Back to Level 4 Index
B: Owange Mwami Mukasa.
♫
(Mr. Mukasa [calling him])
A: Wangi Ssebo.
♫
(Yes, sir.)
B: Njagala ombuulire kye tunaasobola okulya leero. Ekyennyanja, oba nnyama?
♫
(I want you to tell me what we shall eat today. Fish or meat?)
A: Nze nti nsinga kwagala kyannyanja. Ndowooza ekyo kye tunaalya.
♫
(I like fish better. I think that's what we should eat.)
B: Tulidde nnyo ebyennyanja mu wiiki eno. Lwaki tetulya ku nnyama?
♫
(We've eaten so much fish this week. Why don't we eat some meat?)
A: Anti bw'ogula ennyama, ndowooza onoogula ya mbuzi.
♫
(When you buy meat, I think you should get some of goat.)
B: Olya ennyama y'embuzi?
♫
(Do you eat goat?)
A: Eee, etera okumpoomera!
♫
(Oh yes, I often find it delicious!)
B: Naye nze njagala nnyama ya nte.
♫
(But I like beef.)
A: Tokimanyi nti neddira Nte?
♫
(Don't you know that I belong to the Cow clan? [hence he's to avoid eating beef])
B: Ooo! Oli wa kika kya Nte?
♫
(Oh, you belong to the Cow clan?)
A: Yee, ssebo.
♫
(Yes, sir.)
B: Kale nja kugula nnyama ya mbuzi.
♫
(Ok, I'll buy goat's meat.)
A: Weebale nnyo.
♫
(Thanks alot.)
B: Kale ssebo.
♫
(Ok, sir)