Back to Level 2 Index
a. Masindi kye ki? Kibuga.
♫ (What is Masindi? It’s a city.)
b. Masindi kibuga kikulu mu kitundu ki? Bunyoro.
♫ (Masindi is the capital of which area? Bunyoro)
c. Bunyoro kye ki? Bunyoro, kitundu mu Uganda.
♫ (What is Bunyoro? It’s an area in Uganda.)
d. Kye kitundu ekiri mu bukiika ki? Kye kitundu ekiri mu bugwanjuba.
♫ (In which direction is it? It’s an area in the west.)
e. Abantu ab'omu Bunyoro bayitibwa Baganda? Nedda.
♫ (The people of Bunyoro are called Baganda? No, they are not.)
f. Bayitibwa batya? Bayitibwa Banyoro.
♫ (How are they called? They are called Banyoro.)
g. Abantu abasinga obungi mu Bunyoro bakola ki? Abantu b’omu Bunyoro abasinga balimi.
♫ (What do most people in Bunyoro Do? They are mostly farmers.)
h. Mu kibuga mwe balimira? Nedda, mu kibuga mulimu amakolero.
♫ (In the city, is where they do farming? No, in the city, there are factories.)
i. Bakola omulimu gumu gwokka? Nedda, bakola emirimu mingi egy’enjawulo.
♫ (They only do one kind of work? No, they do a variety of jobs.)