Back to Level 3 Index
Ku Ssande muligolokoka mangu?
♫ (On Sunday, will you get up early?)
Ku Ssande tetugenda kugolokoka mangu.
♫ (On Sunday, we won’t get up early.)
Lwaki temuligolokoka mangu?
♫ (Why won’t you get up early?)
Ssande luliba lunaku lukulu.
♫ (Sunday is a holiday.)
Ku Lwomukaaga muliyiga Oluganda?
♫ (On Saturday, will you learn Luganda?)
Ku Lwomukaaga tetuliyiga Luganda.
♫ (On Saturday, we won’t learn Luganda.)
Lwaki temuliyiga Luganda?
♫ (Why won’t you learn Luganda?)
Ku Lwomukaaga tujja kusamba mupiira.
♫ (On Saturday, we are going to play soccer.)
Ku Lwokutaano luno tetulijja mu kibiina.
♫ (On this Friday, we won’t come to class.)
Ku Lwokuna tetuligenda e Jinja.
♫ (On Thursday, we won’t go to Jinja.)
Ku Lwokusooka tetulizannya.
♫(On Monday, we won’t go to play.)