Back to Level 3 Index

Lesson 69 – Exercises

Enkuba eritonnya. (It will rain [in the future].)
Enkuba enaatonnya. (It shall rain.)
Enkuba eneetonnya. (It will rain.)
Enkuba enaatera kutonnya. (It’s about to rain.)
Enkuba ejja kutonnya. (It's going to rain.)
Enkuba egenda kutonnya. (It's going to rain.)
Enkuba etandika okutonnya. (It’s starting to rain.)
Enkuba etonnya. (It's raining.)
Enkuba etonnye. (It has been raining.)
Enkuba yatonnye. (It has rained.)
Enkuba yatonnya. (It rained.)

Enkuba tenaatonnya. (It shall not rain.)
Enkuba tenaatera kutonnya. (It’s not about to rain.)
Enkuba tejja kutonnya. (It's not going to rain.)
Enkuba tegenda kutonnya. (It's not going to rain.)
Enkuba tennatandika kutonnya. (It’s not starting to rain.)
Enkuba tetonnye. (It was not raining.)
Enkuba tetonnya. (It's not raining.)
Enkuba teyatonnye. (It has not been raining.)
Enkuba teyatonnya. (It did not rain.)
Enkuba teetonnye. (It has not rained [for a long time].)