Back to Level 3 Index
Nakitto muto ku Nakimuli.
♫ (Nakitto is younger than Nakimuli.)
Paulo mukulu kunze.
♫ (Paulo is older than I.)
Ndi mukulu ku Nakimuli.
♫ (I’m older than Nakimuli.)
Emmere ki esinga okuwoomera?
♫ (What is your favourite food?)
Ebinyeebwa bye bisinga okumpoomera.
♫ (Groundnuts are my favourite food.)
Osinga kuwoomerwa emmere ki?
♫ (What is your favourite food?)
Nsinga kuwoomerwa matooke n’ebinyeebwa.
♫ (My favourite food is matooke and groundnut sauce.)
Osinga kwagala kulya ki?
♫ (What is your favourite food?)
Nsinga kwagala kulya nnaanansi.
♫ (I love best pineapples to eat.)
Njagala okuyiga oluganda okusinga okusoma okubala.
♫ (I prefer learning Luganda than studying math.)
Ayagala ennaanansi okusinga amenvu.
♫ (He/she prefers pineapples to bananas.)
Musinga kwagala kukola ki?
♫ (What do you [.pl] like best to do?)
Tusinga kwagala kusamba omupiira.
♫ (We like best to play soccer.)