Back to Level 3 Index
Ogiteeka ku meeza.
♫ (You put it on the table.)
Ogiteeka mu nsawo.
♫ (You put it in the bag.)
Ogiteeka mu ssanduuko.
♫ (You put it in the box.)
Ogiteeka kumpi n'ekitabo.
♫ (You put it near the book.)
Togiteeka wansi.
♫ (You don't put it on the floor.)
Engatto zange nziteeka wa?
♫ (Where do I put my shoes?)
Omuwana wange omulabyeko? Wuuno. / Simulaba.
♫ (Have you seen my child? He/she’s here. / I don’t see him/her.)
Abaana bange obalabyeko? Baabano. / Sibalaba.
♫ (Have you seen my children? They are here. / I don’t see them.)
Omuggo gwange ogulabyeko? Guuguno. / Sigulaba.
♫ (Have you seen my walking stick? It is here. / I don’t see it.)
Emiggo gyange ogirabyeko? Giigino. / Sigiraba.
♫ (Have you seen my walking sticks? They are here. I don’t see them.)
Ekitabo kyange okirabyeko? Kiikino.
♫
Ebitabo byange obirabyeko? Biibino.
♫
Essaawa yange ogirabyeko? Yiino.
♫
Engatto zange ozirabyeko? Ziizino.
♫
Eggi lyange olirabyeko? Liirino.
♫
Amagi gange ogalabyeko? Gaagano.
♫
Olugoye lwange olulabyeko? Luuluno.
♫
Engoye zange ozirabyeko? Ziizino.
♫
Akagaali kange okalabyeko? Kaakano.
♫
Obugaali bwange obulabyeko? Buubuno.
♫