Back to Level 3 Index
Ebitongole bingi ebiri mu gavumenti.
♫ (There are many departments in government.)
Ekyo kisinziira ku bitongole ebiri mu gavumenti.
♫ (That depends on government departments.)
Bakola emirimu gya njawulo nga kisinziira ku bitongole ebiri mu gavumenti.
♫ (They do various jobs that are dependent on departments in government.)
Busia eri ku nsalo ya Uganda ne Kenya.
♫ (Busia is on the border of Uganda and Kenya.)
Batera okukola mu ofiisi.
♫ (They often work in offices.)
Bakola emirimu mingi, naddala ne gy'okulima.
♫ (They do many jobs, especially farming.)
Mulimu abantu ba Uganda ne ab'awalala.
♫ (Therein are people from Uganda and elsewhere.)
Bakola mu ofiisi. Batera okukola mu ofiisi.
♫
(They work in offices. They often work in offices.)
Balima mu byalo. Batera okulima mu byalo.
♫
Balunda ente. Batera okulunda ente.
♫
Bazimba amayumba. Batera okuzimba amayumba.
♫
Babeera mu kibuga. Batera okubeera mu kibuga.
♫