Back to Level 3 Index

Lesson 49 – Getting Acquainted

B: Osiibye otyanno nnyabo? ♫ (How are you this afternoon, madame?)
A: Bulungi ssebo. ♫ (I’m fine, sir)
B: Mmm. ♫
A: Osiibye otyanno? ♫ (How are you this afternoon?)
B: Bulungi. ♫ (I’m fine.)
A: Mmm. ♫
B: Ova wa? ♫ (Where are you coming from?)
A: Nva mu Buddu. ♫ (I come from Buddu.)
B: Ova mu Buddu? ♫ (You come from Buddu?)
A: Mmm. ♫
B: Erinnya lyo ggw'ani nnyabo? ♫ (What is your name, madame?)
A: Erinnya lyange nze Namukasa. ♫ (My name is Namukasa.)
B: Namukasa? ♫
A: Mmm. ♫
B: Baakuzaala wa? ♫ (Where you raised up/born?)
A: Banzaalira Buddu eyo. ♫ (I was born there in Buddu.)
B: Kaakati ogenda wa? ♫ (Now where are you going?)
A: Kaakati ŋŋenda Jinja okulaba ku baganda bange. ♫ (Now I am going to Jinja to see my sisters.)
B: Mmm. ♫
A: Mmm. ♫
B: Baganda bo babeera Jinja? ♫ (Your sisters stay in Jinja?)
A: Yee, eriyo baganda bange babiri gye baafumbirwa. ♫ (Yes, my two sisters there are married.)
B: Ooo! ♫
A: Mmm. ♫
B: Naawe oli mufumbo? ♫ (And you, are you married?)
A: Nedda, sinnaba kufumbirwa. ♫ ( No, I’m still not married.)
B: Mmm. ♫
A: Mmm. ♫