Back to Level 3 Index
B: Osiibye otyanno nnyabo?
♫ (How are you this afternoon, madame?)
A: Bulungi ssebo.
♫ (I’m fine, sir)
B: Mmm.
♫
A: Osiibye otyanno?
♫ (How are you this afternoon?)
B: Bulungi.
♫ (I’m fine.)
A: Mmm.
♫
B: Ova wa?
♫ (Where are you coming from?)
A: Nva mu Buddu.
♫ (I come from Buddu.)
B: Ova mu Buddu?
♫ (You come from Buddu?)
A: Mmm.
♫
B: Erinnya lyo ggw'ani nnyabo?
♫ (What is your name, madame?)
A: Erinnya lyange nze Namukasa.
♫ (My name is Namukasa.)
B: Namukasa?
♫
A: Mmm.
♫
B: Baakuzaala wa?
♫ (Where you raised up/born?)
A: Banzaalira Buddu eyo.
♫ (I was born there in Buddu.)
B: Kaakati ogenda wa?
♫ (Now where are you going?)
A: Kaakati ŋŋenda Jinja okulaba ku baganda bange.
♫ (Now I am going to Jinja to see my sisters.)
B: Mmm.
♫
A: Mmm.
♫
B: Baganda bo babeera Jinja?
♫ (Your sisters stay in Jinja?)
A: Yee, eriyo baganda bange babiri gye baafumbirwa.
♫ (Yes, my two sisters there are married.)
B: Ooo!
♫
A: Mmm.
♫
B: Naawe oli mufumbo?
♫ (And you, are you married?)
A: Nedda, sinnaba kufumbirwa.
♫ ( No, I’m still not married.)
B: Mmm.
♫
A: Mmm.
♫