Back to Level 4 Index

Lesson 94 – Ebyekukola

Entebbe kye kibuga ebeera Omulembeze [Pulezidenti] w’eggwanga lya Uganda. Entebbe is the town where the President of Uganda resides.
Bw’oba ova e Kampala, waliwo obuwanvu bwa kilomiita 42 oba 43, era ekibuga Entebbe kiriraanye ennyanja Victoria. Coming from Kampala it is 42 or 43 kilometres away and it’s near Lake Victoria.
Omuntu abeera ava Entebbe akwata oluguudo oludda e Kampala, n’atambulira mu olwo lwokka olw’obukulu bwe kibuga kino. A person coming from Entebbe takes the road leading to Kampala, the only one road exiting Entebbe because of its importance.
Omuntu ng’akutte oluguudo luno, ajja kutuuka ku ssomero ekkulu e Kisibi, ze kilomiita 29 okuva e Kampala, olwo oluvannyuma alyoke atuuke e Kajjansi awakolerwa amataffaali n’amategula olwo ng’amaze okutambula kilomiita endala kkumi na bbiri. On the road, one will reach an important school at Kisubi at 29 kilometres from Kampala then afterwards one will reach a brick and tile factory at Kajjansi at twelve kilometres.
Oluvannyuma atuuka mu kibuga Kampala. Afterwards, one arrives in the city of Kampala.