Back to Level 4 Index
Entebbe kye kibuga ebeera Omulembeze [Pulezidenti] w’eggwanga lya Uganda.
♫ Entebbe is the town where the President of Uganda resides.
Bw’oba ova e Kampala, waliwo obuwanvu bwa kilomiita 42 oba 43, era ekibuga Entebbe kiriraanye ennyanja Victoria.
♫ Coming from Kampala it is 42 or 43 kilometres away and it’s near Lake Victoria.
Omuntu abeera ava Entebbe akwata oluguudo oludda e Kampala, n’atambulira mu olwo lwokka olw’obukulu bwe kibuga kino.
♫ A person coming from Entebbe takes the road leading to Kampala, the only one road exiting Entebbe because of its importance.
Omuntu ng’akutte oluguudo luno, ajja kutuuka ku ssomero ekkulu e Kisibi, ze kilomiita 29 okuva e Kampala, olwo oluvannyuma alyoke atuuke e Kajjansi awakolerwa amataffaali n’amategula olwo ng’amaze okutambula kilomiita endala kkumi na bbiri.
♫ On the road, one will reach an important school at Kisubi at 29 kilometres from Kampala then afterwards one will reach a brick and tile factory at Kajjansi at twelve kilometres.
Oluvannyuma atuuka mu kibuga Kampala.
♫ Afterwards, one arrives in the city of Kampala.