Back to Level 4 Index

Lesson 89 – Let's Eat

A: Jjangu tulye ssebo. Emmere ewedde okuteekateeka. (Come let's eat, sir. The food is already prepared.)
B: Ooo, weebale nnyo nyabo. Enjala ebadde ennuma nnyo. (Oh, Thank you very much, madame. Surely I was hungry.)
A: Enjala ebadde ekuluma nnyo? (Were you hungry?)
B: Yee!
A: Yii! Amangu ago! (Eh! So soon?)
B: Yee, ewaffe mu Amerika tulya buli kiseera. (Yes, we eat all the time at home in America.)
A: Ooo, Ekyo mbadde sikimanyi. (Oh, [excuse me.] that I didn’t know.)
B: Weewaawo. (That’s right.)
A: Emmere yiino; jjangu tulye. (Food is here; come let's eat.)
B: Mmere ki nnyabo? (What kind of food is it, madame?)
A: Matooke, mpozzi n'omuceere... (Matooke, there is rice also ...)
B: Njagala nnyo amatooke. (I like matooke very much.)
A: ... n'obummonde. (... with Irish potatoes.)
B: Mmm.
A: Waliwo n'enkoko. (There is also chicken.)
B: Ooo, bambi, weebale nnyo nnyabo. Ng'okufumbye bulungi! (Oh, I see, thank you very much. Yes, Madam. What good cooking!)
A: Ngezezzaako, ssebo. (I tried, sir.)
B: Omanyi okufumba! (You know very well how to cook!)
A: Weebale kusiima. (Thank you for appreciating.)
B: Ofumbye bulungi nnyo. (Thanks a lot for cooking.)
A: Weewaawo. (Indeed.)