Back to Level 4 Index
A: Jjangu tulye ssebo. Emmere ewedde okuteekateeka.
♫ (Come let's eat, sir. The food is already prepared.)
B: Ooo, weebale nnyo nyabo. Enjala ebadde ennuma nnyo.
♫ (Oh, Thank you very much, madame. Surely I was hungry.)
A: Enjala ebadde ekuluma nnyo?
♫ (Were you hungry?)
B: Yee!
♫
A: Yii! Amangu ago!
♫ (Eh! So soon?)
B: Yee, ewaffe mu Amerika tulya buli kiseera.
♫ (Yes, we eat all the time at home in America.)
A: Ooo, Ekyo mbadde sikimanyi.
♫ (Oh, [excuse me.] that I didn’t know.)
B: Weewaawo.
♫ (That’s right.)
A: Emmere yiino; jjangu tulye.
♫ (Food is here; come let's eat.)
B: Mmere ki nnyabo?
♫ (What kind of food is it, madame?)
A: Matooke, mpozzi n'omuceere...
♫ (Matooke, there is rice also ...)
B: Njagala nnyo amatooke.
♫ (I like matooke very much.)
A: ... n'obummonde.
♫ (... with Irish potatoes.)
B: Mmm.
♫
A: Waliwo n'enkoko.
♫ (There is also chicken.)
B: Ooo, bambi, weebale nnyo nnyabo. Ng'okufumbye bulungi!
♫ (Oh, I see, thank you very much. Yes, Madam. What good cooking!)
A: Ngezezzaako, ssebo.
♫ (I tried, sir.)
B: Omanyi okufumba!
♫ (You know very well how to cook!)
A: Weebale kusiima.
♫ (Thank you for appreciating.)
B: Ofumbye bulungi nnyo.
♫(Thanks a lot for cooking.)
A: Weewaawo.
♫ (Indeed.)