Back to Level 4 Index
Mpaayo ku twenge otutonotono.
♫ (Give me a littel bit of beer.)
Mukasa, noneraayo ku twenge otutonotono.
♫ (Mukasa, fetch me a little bit of beer.)
Mukasa, munonereyo ku tuzzi otutonotono.
♫ (Mukasa, fetch him a little bit of water.)
Tunonereyo ku tuzzi otutonotono.
♫ (Fetch us a little bit of water.)
Tunonereyo ku tuta otutonotono.
♫ (Fetch us a little bit of milk.)
Abaana banonereyo ku tuta otutonotono.
♫ (Fetch the children a little bit of milk.)
Abaana banonereyo ku tunnyo otutonotono.
♫ (Fetch the children a bit of salt.)
Noneraayo ku tunnyo otutonotono.
♫ (Fetch me a bit of salt.)
Noneraayo ku tuzigo otutonotono.
♫ (Fetch me a bit of butter.)
Omwana munonereyo ku tuzigo otutonotono.
♫ (Fetch the child a bit of butter.)
Mpaayo ku tuzzi.
♫ (Give me a bit[drop] of water.)
Nkuweeyo ku tuzzi?
♫ (I give you a bit[drop] of water?)
Bajja kutuwaayo ku tuzzi otutonotono.
♫ (They will give us a little bit of water.)
Bali mu kutuwaayo ku tuzzi otutonotono.
♫ (They are (in process) to give us a little bit of water.)
Batuwadde ku tuzzi otutonotono.
♫ (They gave us a little bit of water.)
Tugaba ku tuzzi otutonotono.
♫ (We offer a little bit of water.)
Bajja kutunonerayo ku tuzzi otutonotono.
♫ (They will fetch us a little bit of water.)
Bali mu kutunonerayo tuzzi otutonotono.
♫ (They are (in process) to fetch us a little bit of water.)
Baatunoneddeyo ku tuzzi otutonotono.
♫ (They fetched us a little bit of water.)
Tunonayo ku tuzzi otutonotono.
♫ (We fetch a little bit of water.)