Back to Level 4 Index

Lesson 76 – Vocabulary

Engoye zange ziddugala. (My clothes are dirty.)
Engoye zange teziddugala. (My clothes are not dirty.)
Jjo engoye zange zaali ziddugala. (My clothes were dirty yesterday.)
Jjo engoye zange zaali teziddugala. (My clothes weren’t dirty yesterday.)
Jjo engoye zange waddugadde. (My clothes got dirty yesterday.)
Jjo engoye zange tezaddugala. (My clothes didn’t get dirty yesterday.)

Bani abaasubiddwa emmere? (Who failed to get food?)
Abaatuuse ekikeerezi baasubiddwa emmere. (Those who arrived late failed to get food.)
Bani abaalidde ekyenkya? (Who ate breakfast?)
Abaagolokose amangu baalidde ekyenkya. (Those who got up early ate breakfast.)
Bani abaaguze ebintu? (Who bought things?)
Abaagenze mu kibuga baaguze ebintu bingi. (Those who went to town bought many things.)
Abaanywedde omwenge omungi baatamidde nnyo. (Those who drank much beer got very drunk.)
Abaawulirizza omusomesa baayize bulungi. (Those who listened to the teacher learned [/studied] well.)