Back to Level 4 Index
 
Ka ŋŋende ngule ennyama.
 ♫ (Let me go buy meat.)
Genda ogule ennyama.
 ♫ (Go buy meat.)
Ka ntuule mpandiike ebbaluwa.
 ♫ (Let me sit and write a letter.)
Tuula owandiike ebbaluwa.
 ♫ (Sit and write a letter.)
Ka tugende tugule ennyama.
 ♫ (Let’s go buy meat.)
Mugende mugule ennyama.
 ♫  (Go [you -.pl] buy meat.)
Ka tutuule tuwandiike ebbaluwa.
 ♫ (Let’s sit and write a letter.)
Mutuule muwandiike ebbaluwa.
 ♫ (Sit [you -.pl] and write a letter.)
Ka tugende tubabuuze.
 ♫ (Let’s go and greet them.)
Mugende mubabuuze.
 ♫ (Go [you -.pl] and greet them.)
Ka tuyingire tutandike okusoma.
 ♫ (Let’s go in and start studying.)
Muyingire mutandike okusoma.
 ♫ (Go [you -.pl] in and start studying.)