Back to Virtue Index

Obumalirivu (Fortitude)

Obumalirivu ge maanyi ag’embeera z’obulamu bw’omuntu.
Pattern
(Fortitude is strength of character)

Kuno kwe kubeera omwetegefu okugumira ebizibu n’obuvumu, okwekkiririzaamu era n’okugumiikiriza.
Pattern
(It is the will to endure, no matter whatever happens, with courage, confidence and patience)

Tubukulaakulanya nga bwe tugenda tunyweza obumalirivu bwaffe okwanŋŋanga buli ekyo kyonna ekitutambaala.
Pattern
(We cultivate it by strengthening our resolve to face whatever comes.)

Busibuka mu kwewaayo eri ekigendererwa kye tukkiririzaamu okubeera ekituufu era ekikulu.
Pattern
(It springs from devotion to a purpose we believe in to be real and important)

Bukula nga bwe tugenda twaŋŋanga n’okuvvuunuka emiziziko emizibu ennyo okubuuka.
Pattern
(It grows as we face and overcome insurmountable obstacles.)

Butuwanirira mu bulamu bwaffe.
Pattern
(It keeps us going.)

Obumalirivu bwaffe buyinza okutwewuunyisa ennyo.
Pattern
(Our fortitude can astonish us.)

====

“Nyweeza emmeeme yo obutasagaasagana mu bumalirivu okutuusa okulumbibwa nga kuwedde era naawe bwotyo onooyongerwa amaanyi.”
Pattern
(“Hold your precious heart steadfast in fortitude until the siege is past and your will will be duly nourished”)
Tamanyiddwa - Anonymous


Empisa y'Obumalirivu
Pattern
(The Practice of Fortitude)

Nnina obugumiikiriza okunyiikirira.
Pattern
(I have patience to endure.)

Nuŋŋamizibwa ekigendererwa ekitegeerekeka.
Pattern
(I am guided by a clear purpose.)

Mmanyi ekyo kye nfaako.
Pattern
(I know what I care about.)

Buli kijja mu bulamu kyongera kunyweza.
Pattern
(Whatever life brings makes me stronger.)

Nnina obumalirivu obwewuunyisa.
Pattern
(I have amazing endurance.)

Nneebaza ku lw'ekirabo eky'Obumalirivu. Gano ge maanyi ag’omwoyo gwange.
Pattern
(I am thankful for the gift of Fortitude. It is strength of my soul.)

Back to Virtue Index