Back to Virtue Index
Okufaayo kwe kulowooza n’obwegendereza ku byetaago by’abalala.
(Consideration is giving careful thought to the needs of others.)
Era kwe kusalawo mu ngeri ey’okufumiitiriza n’okulowooza.
(It is also holding a decision in a contemplative and thoughtful way.)
Tulowoozo bulungi ku ebyo ebinaava mu kusalawo kwaffe nga tetunnaba kusalawo.
(We mindfully consider what will result from our choices before we act.)
Twogera ne mu bukkakkamu era n’amagezi.
(We speak with gentleness and tact.)
Tufaayo ku balala era n’endowooza zaabwe.
(We care about others and their feelings.)
Twekkaanya ebyo bye basinga okwagala n’okwetaaga, olwo ne tukola ebintu ebyo ebibawa emirembe oba okubaleetera essanyu eringi.
(We carefully observe their preferences and needs, then do things to give them ease or bring them joy.)
Okufaayo kwakaayakanira mu bikolwa ebya buli lunaku ebyongera ku ssanyu ly’abalala.
(Consideration shines in daily acts that add to the happiness of others.)
Eno y’engeri esingira ddala obukulu eyitibwamu okulaga okwagala.
(It is one of the most meaningfu ways to show love.)
Abantu abafaayo bagaba ebirabo ebisingira ddala obulungi.
(Considerate people give the very best gifts.)
====
"Wa mukisa oyo… ayongera ku ssanyu ly'omulala."
(“Blessed is one...who adds to the happiness of another.”)
ZOROASTRIANISM, YASHT 22.4
Okussa mu Nkola Empisa y’Okufaayo
(The Practice of Consideration)
Ndowooza ku ebyo abalala bye beetaaga.
(I think about what others need.)
Ndowooza ku ngeri gye balowoozaamu.
(I am thoughtful of their feelings.)
Njogera n’obukkakkamu era n’amagezi.
(I speak gently and tactfully.)
Okusalawo kwange nkukolamu bwegendereza n’amagezi.
(I hold decisions with care and discernment.)
Mpulira essanyu okuleetera abalala essanyu.
(I take joy to bringing joy to others.)
Njolesa okwagala kwange mu bikolwa eby’okulowooza ku balala.
(I show my love in thoughtful acts.)
Neebaza ku lw’ekirabo ky’Okufaayo. Kimpa omukisa okwakaayakanya obulamu abalala.
(I am thankful for the gift of Consideration. It allows me to brighten others’ lives.)
Back to Virtue Index