Back to Virtue Index
Okubeera n’ekigenderewa kwe kumanya nti buli omu ku ffe alina ensonga emubeezaawo.
(Purposefulness is being aware that each of us is here for a reason.)
Obulamu bwaffe tubutwala nga bwa muwendo bwe tuzuula obuvunaanyizibwa buli omu bw’alina okutuukiriza.
(We value our lives by discovering the part that we are uniquely meant to play.)
Tutegeera bulungi ekigendererwa era ne tukissaako omwoyo nga tukirowoozaako nnyo.
(We discern our intention and focus on it mindfully.)
Tukirabira ddala nga kyeyanjuluza.
(We visualize it happening.)
Tweteekerawo ebiruubirirwa era ne tubituukiriza mpolampola, nga tugaana ebyo ebitubuuzabuuza.
(We set goals and achieve them step by step, resisting distractions.)
Buli mulimu tugussaako essira era ne tugumakirako amagezi gaffe gonna.
(We give each task single-minded concentration and excellence.)
Tukola buli mulimu nga tuli basanyufu ne bwe gubeera mangu gutya.
(We invest our full enthusiasm into even the simplest job.)
Mu ntambula y’obulamu bwaffe, mulimu amakoona wamu n’ebyo ebigwawo nga tetubyetegekedde.
(In the flow of our lives, there are many turns and unexpected events.)
Mu byonna, wabeerawo amasomo ag’okuyiga wamu n’ebirabo eby’okufuna.
(Within it all, there are lessons to learn and gifts to receive.)
Okubeera n’ekigendererwa kwe kwesiga olugendo.
(Purposefulness is trusting the journey.)
====
“Okuyitibwa kwaffe y’ensisinkano ey’essanyu erisingira ddala n’ensi zonna.”
(“Our calling is where the deepest gladness and the worlds meet.”)
FREDERICK BUECHNER
Empisa ez’Okubeera n’Ekigendererwa
(The Practice of Purposefulness)
Ntegeerera ddala bulungi okuyitibwa kwange.
(I discern my true calling.)
Ntondawo ekifaananyi eky’ekiseera kino mu bulamu bwange.
(I create a clear vision for this time in my life.)
Nnambika ebiruubirirwa byange ebinaansobozesa okutuukiriza ekigendererwa kyange.
(I set goals for achieving my purpose.)
Ebirowoozo byange byonna mbiteeka ku ekyo kye mbeera nkola.
(I concentrate fully on what I am doing. )
Nfuna essanyu bwe nkola buli mulimu n’amagazi gange gonna.
(I enjoy giving excellence to each task.)
Nzuula omukisa mu buli mbeera gye mpitamu.
(I find opportunity in every experience.)
Neebaza olw’ekirabo eky’okubeera n’ekigendererwa. Kiwa obulamu bwange omuwendo omutuufu.
(I am grateful for the gift of purposefulness. It give my life a true value.)
Back to Virtue Index