Back to Virtue Index

Okusuubira (Hope)

Okusuubira kwe kutunuulira ennaku ezigenda okujja nga tuyita mu bwesigwa n’okukkiriza.
Pattern
(Hope is looking to the future with trust and faith.)

Kwe kubeera n’okusuubira mu biseera eby’ennaku.
Pattern
(It is optimism in the face of adversity.)

Awatali kusuubira, tufiirwa obwagazi bwaffe obw’okunyumirwa obulamu mu bujjuvu.
Pattern
(Without hope, we lose our will to live fully.)

Okusuubira kutuwa obuvumu okusigala nga tweyongera mu maaso.
Pattern
(Hope gives us courage to keep moving forward.)

Kuyinza okuba okuzibu okubanakwo bwe tuba nga tubonyeebonye emirundi mingi, kyokka nga kye kitangaala ekisobola okununula ebirooto byaffe.
Pattern
(It can be elusive when we have suffered often, yet it is the light that can redeem our dreams.)

Nga tulina okusuubira, tumanyi nti tetuli fekka.
Pattern
(With hope we know we are not alone)

Olubeerera wabeerawo obuyambi bwe tuba nga tuli betegefu okubusaba.
Pattern
(There is always help when we are willing to ask.)

Waliwo ebirabo eby’okukuŋŋaanya okuva mu byonna ebibaawo.
Pattern
(There are gifts to be gleaned from all that happens.)

N’okusuubira, tubeera bakakafu okugezaako emirundi egy’omuddiriŋŋanwa.
Pattern
(With hope, we are confident to try and try again.)

====

“ Kyewandikoze ekisinga obutono mu bulamu bwo kwe kugerengetanya ekyo ky'olina mu essuubi. Era ky’ewandisingidde ddala okukola kwe kubeera munda y’okusuubira. Si kulyegombera wala wabula okubeera munda mu lyo, wansi w’akasolya kaalyo.”
Pattern
(”The very least you can do in your life is to figure out what you hope for. And the most you can do is to live inside that hope. Not admire it from a distance but live right in it, under its roof.”)
BARBARA KINGSOLVER


Enkola y’Okusuubira
Pattern
(The Practice of Hope)

Nze ntunuulira ebirungi ebiri mu bulamu.
Pattern
(I maintain a positive attitude.)

Ntwala obulamu bwange wamu mu bujjuvu.
Pattern
(I embrace my life fully.)

Nnina okukkiriza mu muwendo gw’obulamu.
Pattern
(I have faith in the value of life.)

Nnina obukakafu obw’okuwangula.
Pattern
(I have the confidence to succeed.)

Noonya okutegeera amasomo g’omu bulamu.
Pattern
(I seek to discern life’s lessons.)

Ngumira embeera zonna.
Pattern
(I persevere through all conditions.)

Nsiima ku lw'ekirabo ky’Okusuubira. Kye kitangaala ky’obulamu bwange.
Pattern
(I am thankful for the gift of Hope. It is the light of my life.)

Back to Virtue Index