Back to Virtue Index

Obwesigwa (Honesty)

Obwesigwa kwe kubeera ow’amazima, omwesimbu, ateebuzaabuza era atabuusibwabuusibwa.
Pattern
(Honesty is being truthful, sincere, open and genuine.)

Tuli bamativu era bavumu okubeera kye tuli.
Pattern
(We are content and confident to be ourselves.)

Tweraba ffe fennyini wamu n’abalala n’amaaso agataliiko kifu.
Pattern
(We see ourselves and others with unclouded eyes.)

Tetuzimbulukusa bigambo olw’okulaga abalala nti tuli ba kitalo nnyo.
Pattern
(We do not exaggerate to impress others.)

Tugaana okulimba, okubbirira oba okutwala ebitali byaffe.
Pattern
(We refuse to lie, cheat or take what is not ours.)

Tufuba okukuuma ebisuubizo byaffe.
Pattern
(We strive to keep our promises)

Nga bwe tugenda tutegeera emiyinooyino gyaffe wamu n’okwerimba kwaffe, tugenda tubyeggyako mpolampola.
Pattern
(As we recognise our illusions and self-deceptions, we gently let them go.)

Tukkiriza ensobi zaffe ne bwe tumanya nti waliwo omuntu gwe ziyinza okumalamu amaanyi oba okunyiiza.
Pattern
(We admit our mistakes even when we know someone maybe disappointed or angry.)

Tuvumula ebyayogerwanga ebikadde ebitugamba nti tetusaanidde.
Pattern
(We heal old messages that tell us that we are less than worthy.)

Tuyimirira nga tuli bagumu, nga tukimanyi nti tulina omuwendo omutuufu okubeera kye tuli.
Pattern
(We stand strong, knowing we have true value in being who we are.)

====

“Obwesigwa ye nkola yange esinga. Bwe nzigwamu ekitiibwa, nange kennyini nzigwaawo.”
Pattern
(“Honesty is my best policy. If I lose mine honour, I lose myself.”)
WILLIAM SHAKESPEARE


Empisa y'Obwesigwa
Pattern
(The Practice of Honesty)

Ndi mwerufu era omutangaavu.
Pattern
(I am open and transparent.)

Njogera bye ntegeeza era ntegeeza bye njogera.
Pattern
(I say what I mean and mean what I say.)

Nsuubiza ebyo byokka bye nsobola okutuukiriza.
Pattern
(I only make promises I can keep.)

Ennaku zonna nnoonya okumanya amazima.
Pattern
(I continually seek to know the truth.)

Nnina obuntubulamu okukkiriza ensobi.
Pattern
(I have the humility to admit mistakes.)

Ndi musanyufu era omumativu okubeera kye ndi.
Pattern
(I am happy and content to be my self.)

Neebaza olw’ekirabo ky’Obwesigwa. Kinzikiriza okubeera kye ndi mu bujjuvu.
Pattern
(I am thankful for the gift of Honesty. It allows me to be fully myself.)

Back to Virtue Index