Back to Virtue Index
Okwekubiriza kwe kubeera n’okwekomako okukola ekyo kyokka kye tulondawo okukola, okusinga okumala gatwalibwa n’embuyaga z’okwegomba.
( Self-discipline is having control to do only what we truly choose to do, rather than being blown about in the winds of our desires.)
Okwekubiriza kutuwa amaanyi okunyiikira.
( Self-discipline gives us the will to persevere.)
Kutuyamba okutuuka ku biruubirirwa byaffe, okuvaamu eby'omugaso mu kifo ky’okwongezangayo bye tulina okukola.
( It helps us to meet our goals, to be productive instead of procrastinating.)
Kutukugira okwogera oba okukola ebyo bye tuyinza okwejjusa.
( It keeps us from saying or doing things we would regret.)
Tussaayo omwoyo era tuba bamazima, ekituwa eddembe okubeera mu bulamu obw’empisa ezisinga okubeera ennungi.
( We are vigilant and honest with ourselves, which frees us to live by our highest values.)
Tusobola okweggyamu empisa embi ne twesigamu ennungi.
( We are able to weed out bad habits and cultivate good ones.)
Okwefuga ffe ffennyini kumatiza emyoyo gyaffe.
( Self-mastery is fulfilling to our souls.)
====
“Abo abakola emikutu gy’amazzi bafuga mazzi; abaweesi b’obusaale bakola obusaale obugolokofu; ababazzi bafuga embaawo zaabwe, era abatuukirivu bafuga emyoyo gyabwe.”
( "Those who make channels for water control the waters; makers of the arrows make the arrows straight; carpenters control their timber; and the holy control their soul.”)
THE DHAMMAPADA 10, BUDDHISM
Empisa y’Okwekubiriza
( The Practice of Self-discipline)
Neefuga bwe mba nkola okusalawo okw’amagezi.
( I have self-contol to make wise decisions.)
Nze ŋŋaana ebintaataganya.
( I resist distractions.)
Nfaabiina okutuukiriza ebigendererwa byange.
( I persevere in meeting my goals.)
Mmaliriza bye nkola.
( I get things done.)
Nnina amaanyi okubeera omwegendereza.
( I have the strength to be tactful.)
Nkuza n’obwegendereza empisa yange.
( I carefully cultivate my character.)
Neebaza ku lw’ekirabo ky’Okwekubiriza. Ye mulimi w’omwoyo gwange.
( I am thankful for the gift of Self-Discipline. It is the gardener of my soul.)
Back to Virtue Index