Back to Virtue Index
Okusiima kwe kulaba ebirungi ebiri mu bulamu.
( Appreciation is seeing the good in life.)
Kwe kutegeera ebirabo ebijja gye tuli era n’okubyebaza.
( It is recognising the gifts that come our way and showing gratitude for them.)
Bwe tulaga okusiima eri abalala, tulaga ebirungi bye tubalabamu.
( When we express appreciation to others, we mirror the virtues we see in them.)
Tutegeera ebigendererwa byabwe ebirungi era ne tubagulumiza n’okwebaza kwaffe.
( We perceive their positive intentions and honour them with our gratitude.)
Okwagala kuyitimuka ku lw’okusiimibwa.
( Love thrives on appreciation.)
Omukwano gukula nnyo bwe tumanya nti tulabibwa era nti tutwalibwa nga eky’omuwendo.
( Intimacy grows deeper when we know that we are seen and valued.)
Nga tukola omulimu ogw’omwoyo obulamu gwe bututuma okukola, kikulu okusiima okufuba kwaffe n’okukkiriza nti enkulaakulana yaffe weeri.
( As we do the spiritual work life call us to do, it is important to appreciate our efforts and to acknowledge our progress.)
Tetwesiba ku bintu ebibaawo mu bulamu nga tebisanyusa.
( We don’t dwell on the unpleasant things of life.)
Tutwala okuyiga nga kya muwendo ne bwe tuba mu biseera eby’obulumi.
( We value learning even in the painful times.)
Bwe tunywera ddala ebirungi n’ebisanyusa obulamu bye butuwa, tuba tetwonoonye olunaku wadde olumu.
( Drinking deeply of the beauty and pleasures life offers, we don’t waste a single day.)
====
"Ku lw'ekyo ekibaddewo, weebale! Ku lw'ekyo ekijja okubeera - weewaawo!"
( “For what has been, thanks! For what shall be - yes!” )
DAG HAMMERSKJOLD
Empisa ey’Okusiima
( The Practice of Appreciation)
Nze nnoonya ebirungi ebiri mu bulamu era ne mu bantu.
( I look for the good in life and in people.)
Njolesa mu ddembe okwebaza n’okusiima.
( I freely express gratitude and admiration.)
Nteeka ekitiibwa mu nkulaakulana yange.
( I honor my own progress.)
Ntwala ebirabo ebiri mu kugezesebwa kwange nga eky’omuwendo.
( I value gifts in my tests.)
Sikkiriza bulamu bwange kusigala wansi na kuggwaamu maanyi.
(I don’t allow myself to stay down and dissapointed.)
Nsanyukira ebyo byonna ebimpeebwa obulamu.
( I enjoy all that life has to offer.)
Ndi musanyufu olw’ekirabo eky’obulamu bwange.
( I feel grateful for the bounty of my life.)
Neebaza olw’ekirabo eky’okusiima.
Kijjuza ekikompe kyange.
( I am thankful for the gift of appreciation. It fills my cup.)
Back to Virtue Index