Back to Level 2 Index

Lesson 38 – Kampala, Nga

a. Kampala kibuga. (Kampala is a city.)
b. Kye kibuga ekikulu mu Uganda. (It is the capital city of ('in') Uganda.)
c. Kampala kiri mu Buganda. (Kampala is in Buganda.)
d. Kiri mu makkati ga Uganda. (It is in the centre of Uganda.)
e. Kirimu abantu bangi ab'enjawulo. (Therein are many different people.)
f. Bava mu mawanga mangi. (They come from many tribes.)
g. Buganda ggwanga. (Buganda is a tribe.)
h. Bunyoro ne Ankole mawanga. (Bunyoro and Ankole are tribes.)
i. Abantu bangi babeera mu Kampala. (Many people live in Kampala.)
j. Bakola emirimu mingi egy'enjawulo. (They do many different kinds of work.)
k. Babajja. (They do carpentry.)
l. Bazimba. (They do construction.)
m. Bakola emirimu egy'omu ofiisi. (They do office jobs.)
n. Mulimu ofiisi nnyingi. (There are many offices.)
o. Mulimu ebitongole bingi. (There are many departments.)