Back to Level 2 Index
a. Kampala kibuga.
♫ (Kampala is a city.)
b. Kye kibuga ekikulu mu Uganda.
♫ (It is the capital city of ('in') Uganda.)
c. Kampala kiri mu Buganda.
♫ (Kampala is in Buganda.)
d. Kiri mu makkati ga Uganda.
♫ (It is in the centre of Uganda.)
e. Kirimu abantu bangi ab'enjawulo.
♫ (Therein are many different people.)
f. Bava mu mawanga mangi.
♫ (They come from many tribes.)
g. Buganda ggwanga.
♫ (Buganda is a tribe.)
h. Bunyoro ne Ankole mawanga.
♫ (Bunyoro and Ankole are tribes.)
i. Abantu bangi babeera mu Kampala.
♫ (Many people live in Kampala.)
j. Bakola emirimu mingi egy'enjawulo.
♫ (They do many different kinds of work.)
k. Babajja.
♫ (They do carpentry.)
l. Bazimba.
♫ (They do construction.)
m. Bakola emirimu egy'omu ofiisi.
♫ (They do office jobs.)
n. Mulimu ofiisi nnyingi.
♫ (There are many offices.)
o. Mulimu ebitongole bingi.
♫ (There are many departments.)