Back to Level 2 Index

Lesson 34 – Exercises

okuyiga
Njiga Oluganda. (I am learning Luganda.)
Njize Oluganda. (I have learnt Luganda.)

okuyigiriza
Njigiraza abaana. (I am teaching children.)
Njigirizza abaana. (I have taught children.)

okudda
Tudda mu kibiina. (We are returning from class.)
Tuzze mu kibiina. (We have returned from class.)

okuggula
Tuggula oluggi. (We are opening the door.)
Tuggudde oluggi. (We have opened the door.)

okutuula
Tutuula ku ntebe. (We sit on chairs.)
Tutudde ku ntebe. ( We are sitting on chairs.)

okwebaka
Twebaka mangu. (We go to sleep early.)
Twebase mangu. (We have gone to sleep early.)

okwambala
Sambala ngatto. (I don't wear shoes.)
Sambadde ngatto. (I have not worn shoes.)

okutegeera
Sitegeera bulungi. (I do not understand well.)
Sitegedde bulungi. (I have not understood well.)

okubeera
Tobeera mu kibuga? (Don't you stay in town?)
Tobadde mu kibuga? (Have you not been in town?)

okulya
Sirya kyankya. (I don't eat breakfast.)
Siridde kyankya. (I have not eaten breakfast.)

okunywa
Tonywa kaawa? (Don't you drink coffee?)
Tonywedde kaawa? (Have you not drunk coffee?)

okuwummula
Temuwummula? (Don't you [pl.] rest?)
Temuwummudde? (Have you [pl.] not rested?)

okuyigiriza
Temuyigiriza? (Don't you [pl.] teach?)
Temuyigirizza? (Have you [pl.] not taught?)