Back to Level 3 Index
B: Maama ggw'ani?
♫ (Madame, who are you?)
A: Nze Nnakalema.
♫ (I am Nnakalema.)
B: Ooo! Nnakalema?
♫
A: ...ow'e Kkungu eyo.
♫ (...of Kkungu there.)
B: Ow'e Kkungu nnyabo?
♫ (Of Kkungu, Madame?)
A: Mmm.
B: Mmm.
A: Kwe kugamba, omukyala mmuyite?
♫ (May I call on the lady of the house?)
B: Aaa, tomuyita, leka kumuggya ku mirimu gye.
♫ (Oh no, don't call her, leave to do her work.)
A: Mmm. Nnaamulaba olulala.
♫ (Ok, I shall see her next time.)
B: Nnaamugamba ntya nnyabo?
♫ (What shall I tell her?)
A: Mugambe nti Nnakalema yakutumidde.
♫ (Tell her that Nnakalema sent regards.)
B: Kale nnyabo.
♫ (Alright Madame.)
A: Kale.
♫
B: Mmm.
A: Weeraba ssebo.
♫ (Goodbye Sir.)
B: Kale.
♫
A: Mmm.
B: Mmm.