Back to Level 3 Index
GITEEKE
(Put it)
Giteeke ku meeza.
♫ (on the table.)
Giteeke mu nsawo yo.
♫ (in your pocket.)
Giteeke mu sanduuko.
♫ (in the suitcase.)
Giteeke wano.
♫ (here.)
Giteeke awo.
♫ (there.)
Giteeke wali.
♫ (over there. [at a distance])
Ekkalaamu yange ngiteeke wa?
Giteeke wali.
♫ (Where shall I put my pen? Put it over there.)
Ebitabo byaffe tubiteeke wa?
Mubiteeke wali.
♫ (Where shall we put our books? Put them over there.)
Olupapula lwange nduteeke wa?
Luteeke ku meeza.
♫ (Where shall I put my paper? Put it on the table. )
Ensimbi zaffe tuziteeke wa?
Muziteeke mu sanduuko.
♫ (Where shall we put our money? Put it in the suitcase.)
Ekkalaamu ngiteeke ku meeza?
Nedda, giteeka ku ntebe.
♫ (Shall I put the pen on the table? No, put it on the chair.)
Ekkalaamu tuziteeke ku meeza?
Nedda, muziteeke ku ntebe.
♫ (Shall we put the pens on the table? No, Put them on the chairs.)
Tugende ku lubaawo?
Nedda, mugende ebweru.
♫ (Shall we go to the board? No, go outside.)
Nsangule olubaawo?
Nedda, luleke.
♫ (Shall I erase the board? No, leave it as it is.)