Back to Level 3 Index

Lesson 58 – Exercises

Ensi eyo eri mu Uganda. Ensi eyo teri mu Uganda. ♫
(This district/region is in Uganda. This district/region is not in Uganda.)
Abantu abasinga obungi Basoga. Abantu abasinga obungi ssi Basoga. ♫
Balunda ente. Tebalunda nte. ♫
Bakola mu ofiisi. Tebakola mu ofiisi. ♫
Mulimu abantu bangi. Temuli bantu bangi. ♫
Batera okukola mu ofiisi. Tebatera kukola mu ofiisi. ♫
Bava mu Uganda. Tebava mu Uganda. ♫

In past tense:
Ensi eyo yali mu Uganda. Ensi eyo teyali mu Uganda. ♫
(This district/region was in Uganda. This district/region was not in Uganda.)
Abantu abaasinga obungi baali Basoga. Abantu abaasinga obungi tebaali Basoga. ♫
Baalundanga nte. Tebaalundanga nte. ♫
Baakolanga mu ofiisi. Tebaakolanga mu ofiisi. ♫
Mwalimu abantu bangi. Temwali bantu bangi. ♫
Baateranga kukola mu ofiisi. Tebaateranga kukola mu ofiisi. ♫
Baavanga mu Uganda. Tebaavanga mu Uganda. ♫