Back to Level 3 Index

Lesson 53 – The welcome

Alan: Ab'eno. Ab'eno. Koodi. Koodi. (Hello. Hello.)
Betty: Wangi. Gye muli? (Yes, who are there?)
A: Eee, Ffe abaagala okubabuuza ko. (Yea, it’s us who wish to greet you.)
B: Mulabiseko? (Is that you?)
A: Tulabiseko. (It’s us.)
B: Nga tusanyuse okubalaba! (We’re so glad to see you!)
A: Naffe! (We, as well!)
B: Mmm.
A: Mmm.
B: Yingira ssebo. (Come in, sir)
A: Kale nnyabo. (Ok, madame.)
B: Akatebe kaako. ( There’s a seat here.)
A: Weebale nnyo nnyabo. (Thank you very much, madame.)
B: Kale. (Ok.)
A: Mmm.
B: Eradde ssebo? (Is all peaceful where you are, sir?)
A: Eradde. (All is peaceful.)
B: Mmm.
A: Mmm.
B: Osiibye otyanno ssebo? (How is your afternoon, sir?)
A: Bulungi nnyabo. (Fine, madame.)
B: Mmm.
A: Osiibye otyanno nnyabo? (How is your afternoon?)
B: Bulungi. (Good.)
A: Mmm.
B: Bali batya ab'eka? (How are they at home?)
A: Gye bali. (They are there ok.)
A: Oli otyanno nnyabo. (How are you, madame.)
B: Gye tuli bulungi. (We are fine.)
A: Omwami gy'ali nnyabo? (Is mister there, madame?)