Back to Level 1 Index
Ngolokoka.
♫ (I wake up.)
Nnyambala.
♫ (I dress.)
Oluvannyuma ndya ekyenkya.
♫ (Afterwards, I eat breakfast.)
Ŋŋenda mu kibiina.
♫ (I go to class.)
Njiga Oluganda.
♫ (I learn Luganda.)
Nva mu kibiina.
♫ (I come from class.)
Nzirayo eka.
♫ (I return home.)
T: Bw'omala okwambala, oluvannyuma olya ekyenkya?
♫ (When you finish dressing, do you eat breakfast?)
S: Yee, oluvannyuma ndya ekyenkya.
♫ (Yes, afterwards I eat breakfast.)
T: Bw'ova mu kibiina, oluvannyuma okola ki?
♫ (When you come from class, what do you do afterwards?)
S: Nzirayo eka.
♫ (I return home.)
Tuning the Ear to Tonality
Omutunzi, ali ku mulyango gw'edduuka.
♫ (The tailor is at the doorway of the shop.) ,
Omujjanjabi, ali n’omusawo.
♫ (The nurse is with the doctor.) ,
Omuyizi ali mu kibiina.
♫ (The student is in class.) ,
Omusawo w’amannyo ali mu ofiisi ye.
♫ (The dentist is in his office.)
Building Vocabulary
Ambulensi
♫ (Ambulance) ,
Mpiso
♫ (It’s an injection) ,
Ekitanda
♫ (a bed) ,
Bulangiti
♫ (a blanket) ,
Essuuka
♫ (Bedsheets) ,
Akalobo
♫ (a bucket) ,
Ekisenge
♫ (a room)