Back to Level 4 Index
B: Maama, bagamba nti ova mu Amerika!
♫ (Madame, they say that you come from America.)
A: Yee ssebo, nva mu Amerika. Mmaze yo emyaka ng'ena nga nsoma.
♫ (Yes, sir, I come from America. I have spent about four years there studying.)
B: Emyaka ena gyonna?
♫ (Four whole years?)
A: Eee.
♫ (Yes)
B: Iii! Obadde olya ki mu Amerika?
♫ (Oh! What have you been eating in America?)
A: Mbadde ndya mmere gye balina.
♫ (I have been eating the food that they have.)
B: Bagamba nti tebalina matooke.
♫ (They say that they don't have matooke.)
A: Amatooke tebagalina. Naye balina emmere nkumu endala nnyingi, nnyingi nnyo!
♫ (They do not have matooke. But they have lots and lots of other food.)
B: Esinga amatooke?
♫ (Is it better than matooke?)
A: Teri kisinga matooke. Naye balina obummonde n'omuceere. Balya nnyo nnyo n'ennyama.
♫ (Nothing is better than matooke. But, they have Irish potatoes and rice. And they eat a lot of meat.)
B: Ee, nnyama, nnyama ya ki?
♫ (I see, What kind of meat?)
A: Ey'ente n'ey'embizzi n'ey'enkoko. Kwegamba ennyama eya buli ngeri. Ka ŋŋambe bwe ntyo okuggyako obummonde n'omuceere.
♫ (Beef, pork and chicken. That is to say, all kinds of meat. Let me put it that way except the small potatoes and rice.)
B: Mmm, mmere ki endala gye balina okuggyako obummonde n'omuceere?
♫ (Mmm. What other kind of food do they have apart from the Irish potatoes and rice?)
A: Emmere endala ... nva okusinga.
♫ (Other food ... they have mainly stews.)
B: Nva ki?
♫ (What kind of stews)
A: Nga ze tulina wano ewaffe kumpi: emboga, ennyaanya, 'carrots', 'turnips' n'enva endala.
♫ (Almost like those we have here at home: cabbages, tomatoes, carrots, turnips and others.)
B: Byonna bya Luzungu?
♫ (All of them are in English?)
A: Byonna bya Luzungu.
♫ (All of them are in English.)
B: Mmm.
♫ (Alright.)
A: Mmm.