Back to Level 4 Index

Lesson 82 – Exercises2

Abantu bangi amatooke bagalya. (Many people eat matooke.)
Amatooke galiibwa abantu bangi. (Matooke is eaten by many people.)

Abantu bangi lumonde bamulya. (Many people eat sweet potatoe.)
Lumonde aliibwa abantu bangi. (Sweet potatoe is eaten by many people.)

Abantu bangi balugu bamulya. (Many people eat yam.)
Balugu aliibwa abantu bangi. (Yam is eaten by many people.)

Abantu bangi balya ebyennyanja. (Many people eat fish.)
Ebyennyanja biriibwa abantu bangi. (Fish is eaten by many people.)

Abantu bangi balya ennyama. (Many people eat meat.)
Ennyama eriibwa abantu bangi. (Meat is eaten by many people.)

Abantu bangi balya amagi. (Many people eat eggs.)
Amagi galiibwa abantu bangi. (Eggs are eaten by many people.)

Abantu bangi balya ebinyeebwa. (Many people eat groundnuts.)
Ebinyeebwa biriibwa abantu bangi. (Groundnuts are eaten by many people.)

Abantu bangi banywa caayi. (Many people drink tea.)
Caayi anywebwa abantu bangi. (Tea is drunk by many people.)

Abantu bangi banywa kaawa. (Many people drink coffee.)
Kaawa anywebwa abantu bangi. (Coffee is drunk by many people.)

Abantu bonna banywa amazzi. (All people drink water.)
Amazzi ganywebwa abantu bonna. (Water is drunk by all people.)

Abantu bangi banywa omwenge. (Many people drink beer.)
Omwenge gunywebwa abantu bangi. (Beer is drunk by many people.)