Back to Level 4 Index
Wano we twoleza engoye zaffe.
♫
(This is where we wash [our] clothes.)
Wano we tuliira emmere.
♫
(This is where we eat food from.)
Wano we tuyigira Oluganda.
♫
Wano we tuzannyira emizannyo.
♫
Wano we twebaka.
♫
Wano we tukolera.
♫
Muno mwe ntera okuteeka ensimbi zange.
♫
(In here is where I regularly put my money.)
Muno mwe ntera okuteeka engoye zange.
♫
Muno mwe ntera okuteeka ebitabo byange.
♫
Muno mwe ntera okuteeka ekkalaamu zange.
♫
Muno mwe ntera okuteeka ebintu byange.
♫
Muno mwe ntera okuteeka emmere yange.
♫
Njagala ekitabo. Kino kye kitabo kye njagala.
♫
(I want a book. This is the book that I want.)
Njagala ekifaananyi. Kino kye kifaananyi kye njagala.
♫
Njagala akagaali. Kano ke kagaali ke njagala.
♫
Njagala ennyama. Eno ye nnyama gye njagala.
♫
Njagala obummonde. Buno bwe bummonde bwe njagala.
♫
Njagala ettooke. Lino lye ttooke lye njagala.
♫