Back to Games Index
Abaana bayimirira nga bakoze enkulungo. Omwana omu ye “Ekyo” era ayimirira ebweru w’enkulungo. Akuba munne ku kibegabega era amugamba nti: “Weerinde empologoma”. Omwana ateekeddwa okuddamu nti:”Efaanana etya?” “Ekyo” ataandika okunnyonnyola enfaanana y’omu ku baana abalala. Amanga ddala ng’omwana gwe bagezaako okunnyonnyola enfaanana ye ategedde nti ye mpologoma, abuuka mu nkulungo era n’agoba omwana oli “ekyo”. “Ekyo” ateekwa okudduka nga yeetoloola enkulungo n’agimalako nga tannafuna mirembe mu kifo empologoma kye yalese nga kyerere. Singa empologoma emusika nga tannatuuka mu kifo eky’eddembe, olwo asigala nga ye “ekyo”. Singa empologoma emukwata, olwo empologoma y’efuuka “ekyo”.
The children stand in a circle. One child is "it" and stands outside the circle. He taps one of the children on the shoulder and says, 'Watch out for the lion!' The child must respond: 'What does it look like?' "It" begins to describe one of the other children. As soon as the child being described realises that she's the lion, she jumps out of the circle and chases the child who is "it." "It" must run around the circle one complete, time before he can find safety in the spot left open by the lion. If the lion tags him before he can reach safety, then he remains "it." If the lion does not catch him, then the lion becomes "it."
Back to Games Index