Back to Games Index
Abaana bakola enkulungo. Omuntu omu alondebwa nga Kafulu. Ayimirira mu makati g’enkulungo. Omwana omu okuva mu nkulungo alondebwa nga akulembera era atandika okukuba mu ngalo mu ngeri ekola amaloboozi amalungi. Abaana bonna bamwegatako ne bakubira wamu mu ngalo. Kafulu oluvannyuma atambula nadda eri akulembera era n’azina amazina agalimu okutambuza ebigere mu maaso ge. Bw’amala, akulembera agezaako okugegeenya amazina ago. Bw’amugegeenya obulungi, olwo afuuka Kafulu era omwana omulala y’abeera akulembera. Omuzannyo gutandika bupya. Bw’atazina ng’oli bw’abadde akola, omwana omulala alondebwa okukulembera era omuzannyo gutandika bupya. Omuzannyo gweyongerayo bwegutyo okutuusa nga abaana bonna bafunye omukisa ogw’okubeera Kafulu.
The children form a circle. One person is chosen as the Star. He stands in the centre of the circle. A child in the circle is chosen as the leader and he starts clapping a special rhythm. All the children join him and clap together. The Star then walks over to the leader and performs a short made-up dance in front of him. When he finishes, the leader tries to imitate the dance. If he does well, he becomes the Star and another child becomes the leader. The game starts again. If he does not do well, another child is chosen as the leader and the game starts again. The game goes on until all the children have had a chance to be the Star.
Back to Games Index