Back to Games Index
Okutandika, mukole enkulungo. Emipiira eminene ze mbuzi. Akapiira akatono ye mbaata. Ekigenderererwa mu muzannyo guno ogukolebwa mu bwangu kwe kusika omuguwa wakati w’omwana akute embaata nooyo akute emipiira gy’embuzi. Yisa emipiira gy’embuzi okuva ku mwana omu okudda ku mulala, okwetooloola enkulungo, mu bwangu nga bwe kisoboka. Embuzi ziyinga okwetooloola enkulungo ku buli ludda we zaagalira. Bw’obeera oyagala, oyinza okuzaayo embuzi eri oyo eyakaggikuwa. Nga bw’okimanyi, embaata ziyinza okubuuka waggulu ne ziseyeeya mu bbanga oba okubuuka ekintu. Omupiira ogw’embaata guyinza okuweebwa muliraanwa oba n’ogukasukira omwana omulala ng’oguyisiza mu makati g’enkulungo. Ojja kwetaaga okuyisa omupiira gw’embaata amangu ddala nga wakagufuna kubanga embuzi zo zijja zanguyira ddala ku ludda lwo. Okwongera okunyumisa omuzannyo, abaana bayinza okuleekaanira waggulu nti “embuzi” oba “embaata” buli lwe babeera bayisa omupiira.
To begin, form a circle. The large balls are goats. The smaller ball is a goose. The object of this fast paced game is to tag the child holding the goose ball with one of the goat balls. Pass the goat balls from child to child, around the circle, as quickly as possible. The goats can go around the circle in either direction. If you want, you can pass a goat back to the person who just gave it to you. As you know, geese can fly and jump. So the goose ball can be passed to a neighbour or thrown across the circle to another child. You'll want to pass the goose as soon as you get it because those goats are coming your way really fast. For more fun: If you want the game to get really wild, the children should call out "goat" or "goose" every time they pass a ball.
Back to Games Index