Back to Games Index

Omuliro ku Lusozi

[Ebyokukozesa - Tewali kyetaagisa.]

Abaana beebaka bugazi. Baloonda ekigambo kyonna oba erinnya “ng’ekigambo ekikulu.” Akulembera bw’ayogera ekigambo ekyo, abaana bonna balina okuyimirira mangu nnyo. Omuzannyo gutandika oyo akulembera bw’alekaana nti,”Omuliro ku lusozi”. Abaana bonna ne baddamu nti, ”Omuliro!” naye tebasituka. Akulembera alekaana nti “Omuliro ku mugga”. Era abaana baddamu nti “Omuliro” wabula era tebasituka. Kino kigenda bwe kityo mu maaso. Buli oyo akulembera w’agambira nti,”Omuliro ku …” akyusa ekigambo ekisembayo. Agezaako okulowooza ku bifo ebirala bingi awayinza okubeera omuliro. Oyo akulembera ayinza okwogera ekigambo ekikulu ekiseera kyonna wabeera ayagalidde, wakati mu bigambo ebirala oba mu makati gabyo. Ekyo bwakikola, omwana asembayo okusituka ng’ava mu muzannyo. Omwana asigala mu muzannyo ebbanga eggwanvu y’abeera omuwanguzi.

Fire on the Mountain

[Materials - None]

All the children lie on their backs. They choose any word or name to be the "key word." When the leader calls out the key word, all the children have to stand up quickly. The game starts when the leader shouts, "Fire on the Mountain!" All the children answer "Fire!" but do not jump up. The leader shouts, "Fire on the river." Again the children answer "Fire!" but do not jump up. This goes on. Each time the leader says "Fire on the..." he changes the last word of the phrase. He tries to think of many different places for the fire. The leader can shout the key word at any time, between the phrases or in the middle of them. When he does, the child who jumps up last is out of the game. The child who stays in the game the longest is the winner.

Back to Games Index