Back to Games Index
Mu muzannyo guno ogw’empaka, abaana beegabanya mu bibiina bibiri oba ebisingawo. eby’abantu ababiri bikola bulungi, naye kinyuma okusingawo bwe bibeeramu abaana abasatu oba n’okusingawo.
Abaana mu buli kibiina basimba emabega w’oyo abakulembera. Buli omu asitama ku bisinziiro bye, nga akute amuli mu maaso mu kiwato. Olwo mubeera mukoze “ggoonya.” Bwe bakozesa akabonero, nga ggoonya zikyasitamye zitandika okwewalula okutuuka ku kasitale we zimalira. Abaana mu buli bibiina bateekwa okusigala nga bekutte. Singa eggoonya ryekutulako, ekitundu eky’emabega kirina okusigala nga kiyimiridde butengerera okutuusa nga ekitundu eky’omu maaso kizeemu okyegatako nate. Eggoonya esooka okutuuka awamalirwa yebeera ewangudde.
For this race game, the children divide into two or more teams. Two person teams work well, but it's even more fun when the teams have three or more children.
The children in each team line up behind their leader. Everyone squats on his or her heels, holding onto the waist of the child ahead. You have now formed a "crocodile." With the signal, the crocodiles- still squatting- make their way to the finish line. The children in each team must remain in contact. If a crocodile breaks apart, the back section must stay still until the front part re-attaches itself The first crocodile to reach the finish line is the winner.
Back to Games Index