Back to Games Index
Siba omwana omu kantuntunu ku maaso. Abaana abalala basaana basigale nga bayimiridde oba nga batudde okwetooloola ekisenge. Omwana asibiddwa ku maaso atambula ng’abulubuta okutuusa lw’atuuka awali omwana omulala. Bw’akwata ku mwana, oyo gwakuteko akaaba mu ddoboozi ly’ensolo. Oyo amukuteko ayinza okumusaba addemu eddoboozi, era ateekwa okuliddamu emirundi essatu.
Ng’asinzira ku ddoboozi eryo, asibiddwa kantuntunu, ateekwa okuteeba omwana oli omulala y’ani. Bw’abeera ateebye kituufu, omwana oyo akwatiddwako y’addako okusibwa kantuntunu. Bw’abeera tateebye kituufu, alina okuzuula omwana omulala era addemu agezeeko.
Blindfold one child. The other children should remain standing or seated around the room. The blindfolded child then walks around until he finds another child. When he touches that child, the person touched must make an animal noise. If asked to do so, the child must repeat the noise up to three times.
From this sound, the blindfolded child must guess who the other child is. If he guesses correctly, the person touched becomes the next one to wear the blindfold. If he does not guess correctly, he must find another child and try again.
Back to Games Index