Back to Games Index

Olutindo

[Ebyokukozesa - Tewali kyetaagisa]

Saza ennyiriri bbiri eziriraanaganye wansi nga zeesudde bbanga lya 30cm mu bugazi, era luyite “olutindo.” Gabanya abaana mu bibiinja bibiri, nga buli kimu kiyimirira ku ludda lumu olw’ennyiriri. Abaana balina okusomoka olutindo mu kiseera kye kimu, nga buli kimu kidda ku ludda olulala, nga beegendereza obutaleka noomu kuggwa okuva ku lutindo. Buli mwana alina okuyamba munne nga bakyusa ebifo, bayisiŋŋanye omu ku omu.

The Bridge

[Materials - none]

Make two parallel lines on the floor about 30cm apart, and call it "the bridge." Divide the children into two groups, each standing at one end of the lines. The children have to cross the bridge at the same time, going in different directions, without letting anyone fall off the bridge. The children have to help each other change places, passing each other one by one.

Back to Games Index