Back to Level 4 Index

Lesson 77 What a pretty place!

A: Iii! Nga wano walungi! (Wow! It's so beautiful here!)
B: Eee. Wano walungi nnyabo. (Yes, its beautiful here.)
A: Bayitawo batya? (What is this place called?)
B: Wano wayitibwa Kibuli. (It is called Kibuli.)
A: Ssomero? (Is it a school?)
B: Eee, waliwo essomero, waliwo n'omuzigiti. (Yes, there is a school and there is a mosque also.)
A: Ooo! Gwe gulu gwe nnengera wali? (Oh. Is that the one I see over there?)
B: Gwe gwo omunene gw'olengera mulungi nnyo. (That's the one, the big and very beautiful one you see over there.)
A: Gwe gusinga obunene mu Uganda? (It's the biggest in Uganda?)
B: Simanyi, naye mulungi togulaba? (I don't know, but it is beautiful, don't you see it?)
A: Eee, mulungi. (Yes, it's beautiful.)
B: Mmm.
A: Ate kiriki kye nnengera gali amayumba? (And what is that I see over there, are those houses over there?)
B: Oli ye Kampala gw'olengera. (That's Kampala that you see over there.)
A: Iii! Ng'alabika bulungi okuva wano! (Wow, It looks so pretty from here!)
B: Eee, wano walengera bulungi nnyo. (Yes, there is a beautiful view here.)
A: Yuuu!
B: Mmm.
A: Ate eri ennyumba, eri ennene, gye nnengera. (And, what about that big house which I see?)
B: Ennyumba gy'olengera eri? (That house over there?)
A: Mmm.
B: Ye nnyumba y'Omulangira Kakungulu. (It's the house of Prince Kakungulu.)
A: Ooo!
B: Eee. (Aa yes.)
A: Mmuwulidde ko. (I have heard about him.)
B: Eee. (Aa yes.)
A: Mukulu w'Abasiraamu. (He was the head of the Moslems.)
B: Omukulu w'Abasiraamu? (Head of the Moslems?)
A: Ooo! Bambi. Naye wano walungi. (Oh! But it's pretty out here.)
B: Walungi. (It's pretty.)
A: Mmm.
B: Wasanyusa. (It's lovely)
A: Mmm.