Back to Level 3 Index

Lesson 68 – General Future

Tulisitula mu mwaka ogujja okugenda mu Uganda. (We’ll set off for Uganda next year.)
Tuligendera mu nnyonyi. (We’ll go by [in] plane.)
Tulibuukira ku kisaawe ky'ennyonyi e New York. (We’ll fly from the airport in New York.)
Tuliyita mu nsi nnyingi ez'Afrika ey'ebugwanjuba. (We’ll pass through many countries of West Africa.)
Tuliviiramu mu kisaawe ky' Entebbe. (We’ll get off at the Entebbe airport.)
Tuligendera mu mmotoka okutuuka e Kampala. (We’ll go be car as far as Kampala.)
Mulisitula ddi okugenda mu Uganda? (When will you [.pl] set off to go to Uganda?)
Muligenda mutya? (How will you [.pl] go?)

Tugenda kusitula omwaka ogujja okugenda mu Uganda. (We are going to set off for Uganda next year.)
Tugenda kugendera mu nnyonyi. (We are going to go by plane.)
Tugenda kubuukira ku kisaawe e New York. (We are going to fly from New York.)
Tugenda kuyita mu nsi nnyingi ez'Afrika ey'ebugwanjuba. (We are going to pass through many countries of West Africa.)
Tugenda kuviiramu mu kisaawe ky'Entebbe. (We are going to get off at Entebbe airport.)
Tugenda kugendera mu mmotoka okutuuka e Kampala. (We are going to go by car as far as Kampala.)