Back to Level 1 Index

Lesson 23 – A series of everyday morning activities


Ngolokoka. (I wake up.)
Nnyambala. (I dress.)
Oluvannyuma ndya ekyenkya. (Afterwards, I eat breakfast.)
Ŋŋenda mu kibiina. (I go to class.)
Njiga Oluganda. (I learn Luganda.)
Nva mu kibiina. (I come from class.)
Nzirayo eka. (I return home.)

T: Bw'omala okwambala, oluvannyuma olya ekyenkya? (When you finish dressing, do you eat breakfast?)
S: Yee, oluvannyuma ndya ekyenkya. (Yes, afterwards I eat breakfast.)

T: Bw'ova mu kibiina, oluvannyuma okola ki? (When you come from class, what do you do afterwards?)
S: Nzirayo eka. (I return home.)

Tuning the Ear to Tonality
Omutunzi, ali ku mulyango gw'edduuka. (The tailor is at the doorway of the shop.) , Omujjanjabi, ali n’omusawo. (The nurse is with the doctor.) , Omuyizi ali mu kibiina. (The student is in class.) , Omusawo w’amannyo ali mu ofiisi ye. (The dentist is in his office.)

Building Vocabulary
Ambulensi (Ambulance) , Mpiso (It’s an injection) , Ekitanda (a bed) , Bulangiti (a blanket) , Essuuka (Bedsheets) , Akalobo (a bucket) , Ekisenge (a room)