01GEN001.001 In the beginning God created the heaven and the earth. %%% Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi. 01GEN001.002 And the earth was without form, and void; and darkness was upon the face of the deep. And the Spirit of God moved upon the face of the waters. %%% Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi. 01GEN001.003 And God said, Let there be light: and there was light. %%% Katonda n'ayogera nti, Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu. 01GEN001.004 And God saw the light, that it was good: and God divided the light from the darkness. %%% Katonda n'alaba nga kirungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikiza. 01GEN001.005 And God called the light Day, and the darkness he called Night. And the evening and the morning were the first day. %%% Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Nebuba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu. 01GEN001.006 And God said, Let there be a firmament in the midst of the waters, and let it divide the waters from the waters. %%% Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi. 01GEN001.007 And God made the firmament, and divided the waters which were under the firmament from the waters which were above the firmament: and it was so. %%% Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga: bwe kityo bwe kyali. 01GEN001.008 And God called the firmament Heaven. And the evening and the morning were the second day. %%% Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri. 01GEN001.009 And God said, Let the waters under the heaven be gathered together unto one place, and let the dry land appear: and it was so. %%% Katonda n'ayogera nti, Amazzi agali wansi w'ggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali. 01GEN001.010 And God called the dry land Earth; and the gathering together of the waters called he Seas: and God saw that it was good. %%% Katonda olukalu n'aluyita ensi; n'ekkuŋŋaaniro ly'amazi n'aliyita ennyanja: Katonda n'alaba nga kirungi. 01GEN001.011 And God said, Let the earth bring forth grass, the herb yielding seed, and the fruit tree yielding fruit after his kind, whose seed is in itself, upon the earth: and it was so. %%% Katonda n'ayogera nti, ensi emere ebimeera, omuddo ogubala ensigo, omuti gw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali. 01GEN001.012 And the earth brought forth grass, and herb yielding seed after his kind, and the tree yielding fruit, whose seed was in itself, after his kind: and God saw that it was good. %%% Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mu ngeri yaagwo: Katonda n'akiraba nga kirungi. 01GEN001.013 And the evening and the morning were the third day. %%% Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okusatu. 01GEN001.014 And God said, Let there be lights in the firmament of the heaven to divide the day from the night; and let them be for signs, and for seasons, and for days, and years: %%% Katonda n'ayogera nti, Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu; byawulenga emisana n'ekiro, bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka: 01GEN001.015 And let them be for lights in the firmament of the heaven to give light upon the earth: and it was so. %%% Bibenga ng'ettabaaza mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi: bwe kityo bwe kyali. 01GEN001.016 And God made two great lights; the greater light to rule the day, and the lesser light to rule the night: he made the stars also. %%% Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro: era n'emmunyeenye. 01GEN001.017 And God set them in the firmament of the heaven to give light upon the earth, %%% Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi, 01GEN001.018 And to rule over the day and over the night, and to divide the light from the darkness: and God saw that it was good. %%% bifu01GENga emisana n'ekiro, era byawulenga obutangaavu n'ekizikiza: Katonda n'akiraba nga kirungi. 01GEN001.019 And the evening and the morning were the fourth day. %%% Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okuna. 01GEN001.020 And God said, Let the waters bring forth abundantly the moving creature that hath life, and fowl that may fly above the earth in the open firmament of heaven. %%% Katonda n'ayogera nti, Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu. 01GEN001.021 And God created great whales, and every living creature that moveth, which the waters brought forth abundantly, after their kind, and every winged fowl after his kind: and God saw that it was good. %%% Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi. 01GEN001.022 And God blessed them, saying, Be fruitful, and multiply, and fill the waters in the seas, and let fowl multiply in the earth. %%% Katonda n'abiwa omukisa n'ayongera nti, Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi. 01GEN001.023 And the evening and the morning were the fifth day. %%% Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okutaano. 01GEN001.024 And God said, Let the earth bring forth the living creature after his kind, cattle, and creeping thing, and beast of the earth after his kind: and it was so. %%% Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali. 01GEN001.025 And God made the beast of the earth after his kind, and cattle after their kind, and every thing that creepeth upon the earth after his kind: and God saw that it was good. %%% Katonda n'akola ensolo y'ensi mu ngeri yaazo, n'ente mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi. 01GEN001.026 And God said, Let us make man in our image, after our likeness: and let them have dominion over the fish of the sea, and over the fowl of the air, and over the cattle, and over all the earth, and over every creeping thing that creepeth upon the earth. %%% Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafu01GENga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi. 01GEN001.027 So God created man in his own image, in the image of God created he him; male and female created he them. %%% Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda. 01GEN001.028 And God blessed them, and God said unto them, Be fruitful, and multiply, and replenish the earth, and subdue it: and have dominion over the fish of the sea, and over the fowl of the air, and over every living thing that moveth upon the earth. %%% Katonda n'abawa omukisa, Katonda n'abagamba nti, Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi, mugirye: mufu01GENga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi. 01GEN001.029 And God said, Behold, I have given you every herb bearing seed, which is upon the face of all the earth, and every tree, in the which is the fruit of a tree yielding seed; to you it shall be for meat. %%% Katonda n'ayogera nti, Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu, ekibala ky'omuti ogubala ensigo eri mmwe; gunaabanga mmere. 01GEN001.030 And to every beast of the earth, and to every fowl of the air, and to every thing that creepeth upon the earth, wherein there is life, I have given every green herb for meat: and it was so. %%% n'eri buli ensolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali. 01GEN001.031 And God saw every thing that he had made, and, behold, it was very good. And the evening and the morning were the sixth day. %%% Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, nga kirungi. Ne buba akawungeezi ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga. 01GEN002.001 Thus the heavens and the earth were finished, and all the host of them. %%% Ne biggwa okukola eggulu n'ensi n'eggye lyabyo lyonna. 01GEN002.002 And on the seventh day God ended his work which he had made; and he rested on the seventh day from all his work which he had made. %%% Katonda n'amalira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gye yakola; n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola. 01GEN002.003 And God blessed the seventh day, and sanctified it: because that in it he had rested from all his work which God created and made. %%% Katonda n'awa omukisa olunaku olw'omusanvu n'alutukuza: kubanga olwo lwe yawummuliramu mu mirimu gye gyonna Katonda gye yatonda gye yakola. 01GEN002.004 These are the 01GENerations of the heavens and of the earth when they were created, in the day that the LORD God made the earth and the heavens, %%% Bwe lityo ezzadde ery'eggulu n'ensi bwe lyatondebwa, ku lunaku Mukama Katonda lwe yakolerako ensi n'eggulu. 01GEN002.005 And every plant of the field before it was in the earth, and every herb of the field before it grew: for the LORD God had not caused it to rain upon the earth, and there was not a man to till the ground. %%% Na buli muti ogw'omu nsiko nga tegunnaba kubeerawo mu nsi, na buli muddo ogw'omu nsiko nga tegunnaba kumera: kubanga Mukama Katonda yali nga tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi, nga tewali muntu alima ensi; 01GEN002.006 But there went up a mist from the earth, and watered the whole face of the ground. %%% naye olufu ne lulinnya okuva mu nsi, ne lutonnya amazzi ku nsi yonna. 01GEN002.007 And the LORD God formed man of the dust of the ground, and breathed into his nostrils the breath of life; and man became a living soul. %%% Mukama Katonda n'abumba omuntu, n'enfuufu y'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu; omuntu n'afuuka omukka omulamu. 01GEN002.008 And the LORD God planted a garden eastward in Eden; and there he put the man whom he had formed. %%% Mukama Katonda n'asimba olusuku mu Aden ku luuyi olw'ebuvanjuba; n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba. 01GEN002.009 And out of the ground made the LORD God to grow every tree that is pleasant to the sight, and good for food; the tree of life also in the midst of the garden, and the tree of knowledge of good and evil. %%% Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso omulungi okulya; n'omuti ogw'obulamu wakati mu lusuku, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi. 01GEN002.010 And a river went out of Eden to water the garden; and from thence it was parted, and became into four heads. %%% Omugga ne gusibuka mu Adeni okufukiriranga amazzi mu lusuku; ne gwawukanamu ne gufuuka emitwe ena. 01GEN002.011 The name of the first is Pison: that is it which compasseth the whole land of Havilah, where there is gold; %%% Ogw'olubereberye erinnya lyagwo Pisoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavina, erimu zaabu; 01GEN002.012 And the gold of that land is good: there is bdellium and the onyx stone. %%% ne zaabu ey'omu nsi eri nnungi: mulimu bedola n'amayinja sokamu. 01GEN002.013 And the name of the second river is Gihon: the same is it that compasseth the whole land of Ethiopia. %%% N'erinnya ly'omugga ogw'okubiri Gikoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi. 01GEN002.014 And the name of the third river is Hiddekel: that is it which goeth toward the east of Assyria. And the fourth river is Euphrates. %%% N'erinnya ly'omugga ogw'okusatu Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'omugga ogw'okuna Fulaati. 01GEN002.015 And the LORD God took the man, and put him into the garden of Eden to dress it and to keep it. %%% Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga. 01GEN002.016 And the LORD God commanded the man, saying, Of every tree of the garden thou mayest freely eat: %%% Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga: 01GEN002.017 But of the tree of the knowledge of good and evil, thou shalt not eat of it: for in the day that thou eatest thereof thou shalt surely die. %%% naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako: kubanga olunaku lw'oligulyako tolirema kufa. 01GEN002.018 And the LORD God said, It is not good that the man should be alone; I will make him an help meet for him. %%% Mukama Katonda n'ayogera nti Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n'amukolera omubeezi amusaanira. 01GEN002.019 And out of the ground the LORD God formed every beast of the field, and every fowl of the air; and brought them unto Adam to see what he would call them: and whatsoever Adam called every living creature, that was the name thereof. %%% Mukama Katonda n'akola n'ettaka buli nsolo ey'omu nsiko, na buli ekibuuka waggulu; n'abireetera omuntu, okulaba bw'anaabiyita: n'omuntu buli lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye linnya lyakyo. 01GEN002.020 And Adam gave names to all cattle, and to the fowl of the air, and to every beast of the field; but for Adam there was not found an help meet for him. %%% Omuntu n'abituuma amannya buli nsolo n'ekibuuka waggulu na buli nsolo ey'omu nsiko; naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira. 01GEN002.021 And the LORD God caused a deep sleep to fall upon Adam, and he slept: and he took one of his ribs, and closed up the flesh instead thereof; %%% Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. 01GEN002.022 And the rib, which the LORD God had taken from man, made he a woman, and brought her unto the man. %%% Mukama Katonda n'azimba olubiriizi, lw'aggye mu muntu, okuba omukazi, n'amuleeta eri omuntu. 01GEN002.023 And Adam said, This is now bone of my bones, and flesh of my flesh: she shall be called Woman, because she was taken out of Man. %%% Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. 01GEN002.024 Therefore shall a man leave his father and his mother, and shall cleave unto his wife: and they shall be one flesh. %%% Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu. 01GEN002.025 And they were both naked, the man and his wife, and were not ashamed. %%% Bombi baali bwereere, omusajja ne mukazi we, so tebaakwatibwa nsonyi. 01GEN003.001 Now the serpent was more subtil than any beast of the field which the LORD God had made. And he said unto the woman, Yea, hath God said, Ye shall not eat of every tree of the garden? %%% N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku? 01GEN003.002 And the woman said unto the serpent, We may eat of the fruit of the trees of the garden: %%% Omukazi n'agamba omusota nti Ebibala by'emiti egy'omu lusuku tulya; 01GEN003.003 But of the fruit of the tree which is in the midst of the garden, God hath said, Ye shall not eat of it, neither shall ye touch it, lest ye die. %%% Wabula ebibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatangako muleme okufa. 01GEN003.004 And the serpent said unto the woman, Ye shall not surely die. %%% Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa. 01GEN003.005 For God doth know that in the day ye eat thereof, then your eyes shall be opened, and ye shall be as gods, knowing good and evil. %%% Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi. 01GEN003.006 And when the woman saw that the tree was good for food, and that it was pleasant to the eyes, and a tree to be desired to make one wise, she took of the fruit thereof, and did eat, and gave also unto her husband with her; and he did eat. %%% Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso n'omuti nga gwa kwegombebwa, okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya. 01GEN003.007 And the eyes of them both were opened, and they knew that they were naked; and they sewed fig leaves together, and made themselves aprons. %%% Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g'emiti ne beekolera eby'okwambala. 01GEN003.008 And they heard the voice of the LORD God walking in the garden in the cool of the day: and Adam and his wife hid themselves from the presence of the LORD God amongst the trees of the garden. %%% Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'empewo: omusajja ne mukazi we ne beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy'omu lusuku. 01GEN003.009 And the LORD God called unto Adam, and said unto him, Where art thou? %%% Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba: nti Oli luuyi wa? 01GEN003.010 And he said, I heard thy voice in the garden, and I was afraid, because I was naked; and I hid myself. %%% N'ayogera nti, Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, n'entya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka. 01GEN003.011 And he said, Who told thee that thou wast naked? Hast thou eaten of the tree, whereof I commanded thee that thou shouldest not eat? %%% N'ayogera nti Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako? 01GEN003.012 And the man said, The woman whom thou gavest to be with me, she gave me of the tree, and I did eat. %%% Omusajja n'ayogera nti Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange ye ampadde ku muti, ne ndya. 01GEN003.013 And the LORD God said unto the woman, What is this that thou hast done? And the woman said, The serpent beguiled me, and I did eat. %%% Mukama Katonda n'agamba omukazi nti Kiki kino ky'okoze? Omukazi n'ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne ndya. 01GEN003.014 And the LORD God said unto the serpent, Because thou hast done this, thou art cursed above all cattle, and above every beast of the field; upon thy belly shalt thou go, and dust shalt thou eat all the days of thy life: %%% Mukama Katonda n'agamba omusota nti, Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez'omu nnyumba zonna, n'okusinga buli nsolo ey'omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyanga enfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo: 01GEN003.015 And I will put enmity between thee and the woman, and between thy seed and her seed; it shall bruise thy head, and thou shalt bruise his heel. %%% nange obulabe nnaabuteekanga wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi: (ezzadde ly'omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro. 01GEN003.016 Unto the woman he said, I will greatly multiply thy sorrow and thy conception; in sorrow thou shalt bring forth children; and thy desire shall be to thy husband, and he shall rule over thee. %%% N'agamba omukazi nti Okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga. 01GEN003.017 And unto Adam he said, Because thou hast hearkened unto the voice of thy wife, and hast eaten of the tree, of which I commanded thee, saying, Thou shalt not eat of it: cursed is the ground for thy sake; in sorrow shalt thou eat of it all the days of thy life; %%% N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez'obulamu bwo; 01GEN003.018 Thorns also and thistles shall it bring forth to thee; and thou shalt eat the herb of the field; %%% amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro. 01GEN003.019 In the sweat of thy face shalt thou eat bread, till thou return unto the ground; for out of it wast thou taken: for dust thou art, and unto dust shalt thou return. %%% Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere,-okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda. 01GEN003.020 And Adam called his wife's name Eve; because she was the mother of all living. %%% Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu. 01GEN003.021 Unto Adam also and to his wife did the LORD God make coats of skins, and clothed them. %%% Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza. 01GEN003.022 And the LORD God said, Behold, the man is become as one of us, to know good and evil: and now, lest he put forth his hand, and take also of the tree of life, and eat, and live for ever: %%% Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe; 01GEN003.023 Therefore the LORD God sent him forth from the garden of Eden, to till the ground from whence he was taken. %%% Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa. 01GEN003.024 So he drove out the man; and he placed at the east of the garden of Eden Cherubims, and a flaming sword which turned every way, to keep the way of the tree of life. %%% Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu. 01GEN004.001 And Adam knew Eve his wife; and she conceived, and bare Cain, and said, I have gotten a man from the LORD. %%% Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama. 01GEN004.002 And she again bare his brother Abel. And Abel was a keeper of sheep, but Cain was a tiller of the ground. %%% Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka. 01GEN004.003 And in process of time it came to pass, that Cain brought of the fruit of the ground an offering unto the LORD. %%% Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta ebibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda. 01GEN004.004 And Abel, he also brought of the firstlings of his flock and of the fat thereof. And the LORD had respect unto Abel and to his offering: %%% Abiri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye n'amasavu gaazo. Mukama n'akkiriza Abiri ne ky'awaddeyo. 01GEN004.005 But unto Cain and to his offering he had not respect. And Cain was very wroth, and his countenance fell. %%% Naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka. 01GEN004.006 And the LORD said unto Cain, Why art thou wroth? and why is thy countenance fallen? %%% Mukama n'agamba Kayini, nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go? 01GEN004.007 If thou doest well, shalt thou not be accepted? and if thou doest not well, sin lieth at the door. And unto thee shall be his desire, and thou shalt rule over him. %%% Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoomufuganga. 01GEN004.008 And Cain talked with Abel his brother: and it came to pass, when they were in the field, that Cain rose up against Abel his brother, and slew him. %%% Kayini n'ayogera ne Abiri muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta. 01GEN004.009 And the LORD said unto Cain, Where is Abel thy brother? And he said, I know not: Am I my brother's keeper? %%% Mukama n'agamba Kayini nti, Aluwa Abiri muganda wo? N'ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange? 01GEN004.010 And he said, What hast thou done? the voice of thy brother's blood crieth unto me from the ground. %%% N'ayogera nti Okoze ki? Eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi. 01GEN004.011 And now art thou cursed from the earth, which hath opened her mouth to receive thy brother's blood from thy hand; %%% Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo; 01GEN004.012 When thou tillest the ground, it shall not henceforth yield unto thee her strength; a fugitive and a vagabond shalt thou be in the earth. %%% bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze. 01GEN004.013 And Cain said unto the LORD, My punishment is greater than I can bear. %%% Kayini n'agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange, tekuyinzika kugumiikirizibwa. 01GEN004.014 Behold, thou hast driven me out this day from the face of the earth; and from thy face shall I be hid; and I shall be a fugitive and a vagabond in the earth; and it shall come to pass, that every one that findeth me shall slay me. %%% Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era nnaabanga mmomboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita. 01GEN004.015 And the LORD said unto him, Therefore whosoever slayeth Cain, vengeance shall be taken on him sevenfold. And the LORD set a mark upon Cain, lest any finding him should kill him. %%% Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta. 01GEN004.016 And Cain went out from the presence of the LORD, and dwelt in the land of Nod, on the east of Eden. %%% Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni. 01GEN004.017 And Cain knew his wife; and she conceived, and bare Enoch: and he builded a city, and called the name of the city, after the name of his son, Enoch. %%% Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we. 01GEN004.018 And unto Enoch was born Irad: and Irad begat Mehujael: and Mehujael begat Methusael: and Methusael begat Lamech. %%% Ne Enoka n'azaala Iradi: Iradi n'azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri: 01GEN004.019 And Lamech took unto him two wives: the name of the one was Adah, and the name of the other Zillah. %%% Lameka n'awasa abakazi babiri; ow'olubereberye erinnya lye Ada, n'ow'okubiri erinnya lye Zira. 01GEN004.020 And Adah bare Jabal: he was the father of such as dwell in tents, and of such as have cattle. %%% Ada n'azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w'abo abatuula mu weema nga balunda. 01GEN004.021 And his brother's name was Jubal: he was the father of all such as handle the harp and organ. %%% N'erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w'abo abakuba ennanga n'omulere. 01GEN004.022 And Zillah, she also bare Tubalcain, an instructer of every artificer in brass and iron: and the sister of Tubalcain was Naamah. %%% Nate Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. 01GEN004.023 And Lamech said unto his wives, Adah and Zillah, Hear my voice; ye wives of Lamech, hearken unto my speech: for I have slain a man to my wounding, and a young man to my hurt. %%% Lameka n'agamba bakazi be nti Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange: Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange: Kubanga natta omusajja kubanga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze: 01GEN004.024 If Cain shall be avenged sevenfold, truly Lamech seventy and sevenfold. %%% Obanga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu. 01GEN004.025 And Adam knew his wife again; and she bare a son, and called his name Seth: For God, said she, hath appointed me another seed instead of Abel, whom Cain slew. %%% Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta. 01GEN004.026 And to Seth, to him also there was born a son; and he called his name Enos: then began men to call upon the name of the LORD. %%% Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erinnya lya Mukama. 01GEN005.001 This is the book of the generations of Adam. In the day that God created man, in the likeness of God made he him; %%% Kino kye kitabo eky'okuzaalibwa kwa Adamu. Olunaku Katonda lwe yatonderamu omuntu, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamukolera; 01GEN005.002 Male and female created he them; and blessed them, and called their name Adam, in the day when they were created. %%% omusajja n'omukazi bwe yabatonda; n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya lyabwe Adamu ku lunaku lwe baatonderwamu. 01GEN005.003 And Adam lived an hundred and thirty years, and begat a son in his own likeness, after his image; and called his name Seth: %% %Adamu n'amala emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi mu kifaananyi kye, mu ngeri ye; n'amutuuma erinnya lye Seezi: 01GEN005.004 And the days of Adam after he had begotten Seth were eight hundred years: and he begat sons and daughters: %%% ennaku za Adamu bwe yamala okuzaala Seezi emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN005.005 And all the days that Adam lived were nine hundred and thirty years: and he died. %%% Ennaku zonna eza Adamu ze yamala ne ziba emyaka lwenda mu asatu; n'afa. 01GEN005.006 And Seth lived an hundred and five years, and begat Enos: %%% Seezi n'amala emyaka kikumi mu ataano, n'azaala Enosi. 01GEN005.007 And Seth lived after he begat Enos eight hundred and seven years, and begat sons and daughters: %%% Seezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enosi emyaka lunaana mu musanvu n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; 01GEN005.008 And all the days of Seth were nine hundred and twelve years: and he died. %%% ennaku zonna eza Seezi ne ziba emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri; n'afa. 01GEN005.009 And Enos lived ninety years, and begat Cainan: %%% Enosi n'amala emyaka kyenda, n'azaala Kenani: 01GEN005.010 And Enos lived after he begat Cainan eight hundred and fifteen years, and begat sons and daughters: %%% Enosi n'awangaala bwe yamala okuzaala Kenani emyaka lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 01GEN005.011 And all the days of Enos were nine hundred and five years: and he died. %%% ennaku zonna eza Enosi ne ziba emyaka lwenda mu etaano; n'afa. 01GEN005.012 And Cainan lived seventy years, and begat Mahalaleel: %%% Kenani n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Makalaleri: 01GEN005.013 And Cainan lived after he begat Mahalaleel eight hundred and forty years, and begat sons and daughters: %%% Kenani n'awangaala bwe yamala okuzaala Makalaleri emyaka lunaana mu ana, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 01GEN005.014 And all the days of Cainan were nine hundred and ten years: and he died. %%% ennaku zonna eza Kenani ne ziba emyaka lwenda mu kkumi; n'afa. 01GEN005.015 And Mahalaleel lived sixty and five years, and begat Jared: %%% Makalaleri n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yakedi: 01GEN005.016 And Mahalaleel lived after he begat Jared eight hundred and thirty years, and begat sons and daughters: %%% Makalaleri n'awangaala bwe yamala okuzaala Yaledi emyaka lunaana mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 01GEN005.017 And all the days of Mahalaleel were eight hundred ninety and five years: and he died. %%%ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano; n'afa. 01GEN005.018 And Jared lived an hundred sixty and two years, and he begat Enoch: %%% Yaledi n'amala emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka; 01GEN005.019 And Jared lived after he begat Enoch eight hundred years, and begat sons and daughters: %%% Yaledi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enoka emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 01GEN005.020 And all the days of Jared were nine hundred sixty and two years: and he died. %%% ennaku zonna eza Yaledi ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri; n'afa. 01GEN005.021 And Enoch lived sixty and five years, and begat Methuselah: %%% Enoka n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Mesuseera: 01GEN005.022 And Enoch walked with God after he begat Methuselah three hundred years, and begat sons and daughters: %%% Enoka n'atambulira wamu ne Katonda bwe yamala okuzaala Mesuseera emyaka bisatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 01GEN005.023 And all the days of Enoch were three hundred sixty and five years: %%% ennaku zonna eza Enoka ne ziba emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano: 01GEN005.024 And Enoch walked with God: and he was not; for God took him. %%% Enoka n'atambulira wamu ne Katonda: so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala. 01GEN005.025 And Methuselah lived an hundred eighty and seven years, and begat Lamech: %%% Mesuseera n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n’azaala Lameka: 01GEN005.026 And Methuselah lived after he begat Lamech seven hundred eighty and two years, and begat sons and daughters: %%% Mesuseera n'awangaala bwe yamala okuzaala Lameka emyaka lusanvu mu kinaana mu ebiri, n'azaala abaana ab'obulelizi n'ab'obuwala: 01GEN005.027 And all the days of Methuselah were nine hundred sixty and nine years: and he died. %%% ennaku zonna eza Mesuseera ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda; n'afa. 01GEN005.028 And Lamech lived an hundred eighty and two years, and begat a son: %%% Lameka n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi: 01GEN005.029 And he called his name Noah, saying, This same shall comfort us concerning our work and toil of our hands, because of the ground which the LORD hath cursed. %%% n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti Ono ye alitusanyusa mu mulimu gwaffe ne mu kutegana okw’emikono gyaffe olw’ensi Mukama gye yakolimira. 01GEN005.030 And Lamech lived after he begat Noah five hundred ninety and five years, and begat sons and daughters: %%% Lameka n'awangaala bwe yamala okuzaala Nuuwa emyaka bitaano mu kyenda mu etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 01GEN005.031 And all the days of Lamech were seven hundred seventy and seven years: and he died. %%% ennaku zonna eza Lameka ne ziba emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu; n'afa. 01GEN005.032 And Noah was five hundred years old: and Noah begat Shem, Ham, and Japheth. %%% Nuuwa yali nga yaakamala emyaka bitaano: Nuuwa n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. 01GEN006.001 And it came to pass, when men began to multiply on the face of the earth, and daughters were born unto them, %%% Awo abantu bwe baasooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab'obuwala, 01GEN006.002 That the sons of God saw the daughters of men that they were fair; and they took them wives of all which they chose. %%% abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. 01GEN006.003 And the LORD said, My spirit shall not always strive with man, for that he also is flesh: yet his days shall be an hundred and twenty years. %%% Mukama n'ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. 01GEN006.004 There were giants in the earth in those days; and also after that, when the sons of God came in unto the daughters of men, and they bare children to them, the same became mighty men which were of old, men of renown. %%% Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b'abantu, ne babazaalira abaana: bano be b'amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira. 01GEN006.005 And God saw that the wickedness of man was great in the earth, and that every imagination of the thoughts of his heart was only evil continually. %%% Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. 01GEN006.006 And it repented the LORD that he had made man on the earth, and it grieved him at his heart. %%% Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n'anakuwala mu mutima gwe. 01GEN006.007 And the LORD said, I will destroy man whom I have created from the face of the earth; both man, and beast, and the creeping thing, and the fowls of the air; for it repenteth me that I have made them. %%% Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola. 01GEN006.008 But Noah found grace in the eyes of the LORD. %%% Naye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama. 01GEN006.009 These are the generations of Noah: Noah was a just man and perfect in his generations, and Noah walked with God. %%% Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda. 01GEN006.010 And Noah begat three sons, Shem, Ham, and Japheth %%% Nuuwa n'azaala abaana basatu, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. 01GEN006.011 The earth also was corrupt before God, and the earth was filled with violence. %%% Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n'ejjula eddalu. 01GEN006.012 And God looked upon the earth, and, behold, it was corrupt; for all flesh had corrupted his way upon the earth. %%% Katonda n'alaba ensi, ng'eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi. 01GEN006.013 And God said unto Noah, The end of all flesh is come before me; for the earth is filled with violence through them; and, behold, I will destroy them with the earth. %%%Katonda n'agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n'ensi. 01GEN006.014 Make thee an ark of gopher wood; rooms shalt thou make in the ark, and shalt pitch it within and without with pitch. %%% Weekolere eryato n'omuti goferi; osalangamu ennyumba mu lyato, osiige munda ne kungulu envumbo. 01GEN006.015 And this is the fashion which thou shalt make it of: The length of the ark shall be three hundred cubits, the breadth of it fifty cubits, and the height of it thirty cubits. %%% Bw'otyo bw'okolanga: emikono ebikumi bisatu obuwanvu bw'eryato, n'emikono ataano obugazi bwalyo, n'emikono asatu obugulumivu bwalyo. 01GEN006.016 A window shalt thou make to the ark, and in a cubit shalt thou finish it above; and the door of the ark shalt thou set in the side thereof; with lower, second, and third stories shalt thou make it. %%% Osalangako ekituli ku lyato, era ng'omukono gumu bw'olimala waggulu; n'omulyango gw'eryato oguteekanga mu mbiriizi zaalyo okolanga eryato nga lirina ennyumba eya wansi, n'ey'okubiri, n'ey'okusatu. 01GEN006.017 And, behold, I, even I, do bring a flood of waters upon the earth, to destroy all flesh, wherein is the breath of life, from under heaven; and every thing that is in the earth shall die. %%% Nange, laba, nze ndireeta amataba ag'amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa. 01GEN006.018 But with thee will I establish my covenant; and thou shalt come into the ark, thou, and thy sons, and thy wife, and thy sons' wives with thee. %%% Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo wamu naawe. 01GEN006.019 And of every living thing of all flesh, two of every sort shalt thou bring into the ark, to keep them alive with thee; they shall be male and female. %%% Ne mu buli kiramu mu birina omubiri byonna, bibiri bibiri mu buli ngeri by'olireeta mu lyato, biryoke bibeere ebiramu awamu naawe; biriba ekisajja n'ekikazi. 01GEN006.020 Of fowls after their kind, and of cattle after their kind, of every creeping thing of the earth after his kind, two of every sort shall come unto thee, to keep them alive. %%% Mu bibuuka mu ngeri yaabyo, mu nte mu ngeri yaazo, mu buli ekyewalula eky'omu nsi mu ngeri yaakyo, mu buli ngeri bibiri bibiri birijja gy'oli, bibe ebiramu. 01GEN006.021 And take thou unto thee of all food that is eaten, and thou shalt gather it to thee; and it shall be for food for thee, and for them. %%% Naawe weetwalire ku mmere yonna eriibwa, ogyekuŋŋaanyize; eriba mmere gy'oli ggwe nabyo. 01GEN006.022 Thus did Noah; according to all that God commanded him, so did he. %%% Nuuwa n'akola bw'atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw'atyo bwe yakola. 01GEN007.001 And the LORD said unto Noah, Come thou and all thy house into the ark; for thee have I seen righteous before me in this generation. %%% Mukama n'agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino. 01GEN007.002 Of every clean beast thou shalt take to thee by sevens, the male and his female: and of beasts that are not clean by two, the male and his female. %%% Mu buli nsolo ennongoofu twala musanvu musanvu ensajja n'enkazi yaayo; era ne mu nsolo ezitali nnongoofu bbiri, ensajja n'enkazi yaayo; 01GEN007.003 Of fowls also of the air by sevens, the male and the female; to keep seed alive upon the face of all the earth. %%% era ne mu bibuuka waggulu, musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi: ezzadde liryoke libe eddamu ku nsi yonna. 01GEN007.004 For yet seven days, and I will cause it to rain upon the earth forty days and forty nights; and every living substance that I have made will I destroy from off the face of the earth. %%% Kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nze nditonnyesa enkuba ku nsi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nange ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva mu ttaka. 01GEN007.005 And Noah did according unto all that the LORD commanded him. %%% Nuuwa byonna n'abikola nga Katonda bwe yamulagira. 01GEN007.006 And Noah was six hundred years old when the flood of waters was upon the earth. %%% Naye Nuuwa yali nga yaakamala emyaka lukaaga, amataba ag'amazzi bwe gaabeera ku nsi. 01GEN007.007 And Noah went in, and his sons, and his wife, and his sons' wives with him, into the ark, because of the waters of the flood. %%% Nuuwa n'ayingira n’abaana be: awamu naye mu lyato olw’amazzi g'amataba. 01GEN007.008 Of clean beasts, and of beasts that are not clean, and of fowls, and of every thing that creepeth upon the earth, %%% Mu nsolo ennongoofu, ne mu nsolo ezitali nnongoofu, ne mu bibuuka, ne mu buli ekyewalula ku nsi, 01GEN007.009 There went in two and two unto Noah into the ark, the male and the female, as God had commanded Noah. %%% bibiri bibiri ne biyingira eri Nuuwa mu lyato, ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yalagira Nuuwa. 01GEN007.010 And it came to pass after seven days, that the waters of the flood were upon the earth. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ennaku omusanvu ziri, amazzi ag'amataba ne gaba ku nsi. 01GEN007.011 In the six hundredth year of Noah's life, in the second month, the seventeenth day of the month, the same day were all the fountains of the great deep broken up, and the windows of heaven were opened. %%% Mu mwaka ogw'olukaaga og'wobulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi, ku lunaku olwo ne zizibukuka ensulo zonna, ez'omu nnyanja ennene, n'ebituli eby'omu ggulu ne bigguka. 01GEN007.012 And the rain was upon the earth forty days and forty nights. %%% Enkuba n'etonnyera ku nsi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro. 01GEN007.013 In the selfsame day entered Noah, and Shem, and Ham, and Japheth, the sons of Noah, and Noah's wife, and the three wives of his sons with them, into the ark; %%% Ku lunaku olwo Nuuwa n'ayingira ne Seemu ne Kaamu ne Yafeesi, abaana ba Nuuwa, ne mukazi wa Nuuwa n’abakazi abasatu ab'abaana be awamu nabo, mu lyato; 01GEN007.014 They, and every beast after his kind, and all the cattle after their kind, and every creeping thing that creepeth upon the earth after his kind, and every fowl after his kind, every bird of every sort.%%% Abo na buli nsolo mu ngeri yaayo, n'ente zonna mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo, na buli ekibuuka mu ngeri yaakyo, buli nnyonyi eya buli kiwaawaatiro. 01GEN007.015 And they went in unto Noah into the ark, two and two of all flesh, wherein is the breath of life. %%% Ne biyingira eri Nuuwa mu lyato bibiri bibiri mu buli nnyama yonna erimu omukka ogw'obulamu. 01GEN007.016 And they that went in, went in male and female of all flesh, as God had commanded him: and the LORD shut him in. %%% Ebyayingira ne biyingira ekisajja n'ekikazi mu buli nnyama, nga Katonda bwe yamulagira: Mukama n'amuggalira munda. 01GEN007.017 And the flood was forty days upon the earth; and the waters increased, and bare up the ark, and it was lift up above the earth. %%% Amataba ne gabeera ku nsi, ennaku amakumi ana; amazzi ne geeyongera ne gasitula eryato; ne liwanikibwa waggulu w’ensi. 01GEN007.018 And the waters prevailed, and were increased greatly upon the earth; and the ark went upon the face of the waters. %%% Amazzi ne gafuga, ne geeyongera nnyo ku nsi; eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 01GEN007.019 And the waters prevailed exceedingly upon the earth; and all the high hills, that were under the whole heaven, were covered. %%% Amazzi ne gayinza nnyo ku nsi; ensozi zonna empanvu ne zisaanikirwa ezaali wansi w'eggulu lyonna. 01GEN007.020 Fifteen cubits upward did the waters prevail; and the mountains were covered. %%% Emikono kkumi n'etaano okugenda waggulu amazzi bwe gaayinza; ensozi ne zisaanikirwa. 01GEN007.021 And all flesh died that moved upon the earth, both of fowl, and of cattle, and of beast, and of every creeping thing that creepeth upon the earth, and every man: %%% Buli nnyama etambula ku nsi n'efa, ekibuuka, n'ente, n'ensolo na buli ekyewalula ku nsi, na buli muntu yenna: 01GEN007.022 All in whose nostrils was the breath of life, of all that was in the dry land, died. %%% byonna ebyalimu omukka ogw'omwoyo ogw'obulamu mu nnyindo zaabyo, mu byonna ebyali mu lukalu ne bifa. 01GEN007.023 And every living substance was destroyed which was upon the face of the ground, both man, and cattle, and the creeping things, and the fowl of the heaven; and they were destroyed from the earth: and Noah only remained alive, and they that were with him in the ark. %%% N'asangula buli kintu kiramu ekyali kungulu ku ttaka, omuntu, n'ente, n'ekyewalula, n'ekibuuka waggulu; ne bisangulibwa ku nsi: Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato. 01GEN007.024 And the waters prevailed upon the earth a hundred and fifty days.%%% Amazzi ne gayinza ku nsi ennaku kikumi mu ataano. 01GEN008.001 And God remembered Noah, and every living thing, and all the cattle that was with him in the ark: and God made a wind to pass over the earth, and the waters assuaged; %%% Katonda n'ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali awamu naye mu lyato: Katonda n'aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka; 01GEN008.002 The fountains also of the deep and the windows of heaven were stopped, and the rain from heaven was restrained; %%% era n'ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa, enkuba ey'omu ggulu n'eziyizibwa; 01GEN008.003 And the waters returned from off the earth continually: and after the end of the hundred and fifty days the waters were abated. %%% amazzi ne gadda okuva ku nsi obutayosa: ne gaweebuuka amazzi oluvannyuma ennaku ekikumi mu ataano bwe zaayitawo. 01GEN008.004 And the ark rested in the seventh month, on the seventeenth day of the month, upon the mountains of Ararat. %%% Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. 01GEN008.005 And the waters decreased continually until the tenth month: in the tenth month, on the first day of the month, were the tops of the mountains seen. %%% Amazzi ne gaweebuuka obutayosa okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi: mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi entikko z'ensozi ne zirabika. 01GEN008.006 And it came to pass at the end of forty days, that Noah opened the window of the ark which he had made: %%% Awo oluvannyuma lw'ennaku amakumi ana Nuuwa n’asumulula ekituli eky'eryato kye yakola: 01GEN008.007 And he sent forth a raven, which went forth to and fro, until the waters were dried up from off the earth. %%% n'atuma namuŋŋoona n'afuluma n'addiŋŋananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. 01GEN008.008 Also he sent forth a dove from him, to see if the waters were abated from off the face of the ground; %%% N'atuma ejjiba okuva w'ali alyoke alabe ng'amazzi gaweebuuse kungulu ku nsi; 01GEN008.009 But the dove found no rest for the sole of her foot, and she returned unto him into the ark, for the waters were on the face of the whole earth: then he put forth his hand, and took her, and pulled her in unto him into the ark. %%% naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali kungulu ku nsi yonna: n'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mw'ali mu lyato. 01GEN008.010 And he stayed yet other seven days; and again he sent forth the dove out of the ark; %%% N'ayosaawo ennaku musanvu nate; nate n'atuma ejjiba okuva mu lyato; 01GEN008.011 And the dove came in to him in the evening; and, lo, in her mouth was an olive leaf pluckt off: so Noah knew that the waters were abated from off the earth. %%% ejjiba ne likomawo olw'eggulo mw'ali; laba, mu kamwa kaalyo ne muba akalagala akabisi ak'omuzeeyituuni: Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi. 01GEN008.012 And he stayed yet other seven days; and sent forth the dove; which returned not again unto him any more. %%% N'ayosaawo ennaku musanvu nate; n'atuma ejjiba; awo oluvannyuma teryakomawo nate gy'ali. 01GEN008.013 And it came to pass in the six hundredth and first year, in the first month, the first day of the month, the waters were dried up from off the earth: and Noah removed the covering of the ark, and looked, and, behold, the face of the ground was dry. %%% Awo mu mwaka ogw'olukaaga mu gumu, mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nuuwa n'aggyako ekyasaanikira eryato, n'atunuulira, laba, kungulu ku nsi nga kukalidde. 01GEN008.014 And in the second month, on the seven and twentieth day of the month, was the earth dried. %%% Mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'amakumi abiri mu musanvu olw'omwezi, ensi n'ekalira. 01GEN008.015 And God spake unto Noah, saying, %%% Katonda n'agamba Nuuwa nti 01GEN008.016 Go forth of the ark, thou, and thy wife, and thy sons, and thy sons' wives with thee. %%% Va mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n’abaana bo, n'abakazi b'abaana bo, awamu naawe. 01GEN008.017 Bring forth with thee every living thing that is with thee, of all flesh, both of fowl, and of cattle, and of every creeping thing that creepeth upon the earth; that they may breed abundantly in the earth, and be fruitful, and multiply upon the earth. %%% Ofulumye wamu naawe buli kiramu ekiri awamu naawe mu buli nnyama yonna, ekibuuka n'ente na buli ekyewalula ku nsi; bizaalenga bibune mu nsi, byalenga byeyongerenga ku nsi. 01GEN008.018 And Noah went forth, and his sons, and his wife, and his sons' wives with him: %%% Nuuwa n'afuluma, n'abaana be ne mukazi we n'abakazi b'abaana be awamu naye: 01GEN008.019 Every beast, every creeping thing, and every fowl, and whatsoever creepeth upon the earth, after their kinds, went forth out of the ark. %%% buli nsolo, buli ekyewalula, na buli ekibuuka, buli ekitambula kyonna ku nsi, mu bika byabyo, ne bifuluma mu lyato. 01GEN008.020 And Noah builded an altar unto the LORD; and took of every clean beast, and of every clean fowl, and offered burnt offerings on the altar. %%% Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto. 01GEN008.021 And the LORD smelled a sweet savour; and the LORD said in his heart, I will not again curse the ground any more for man's sake; for the imagination of man's heart is evil from his youth; neither will I again smite any more every thing living, as I have done. %%% Mukama n'awulira evvumbe eddungi; Mukama n'ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw'omuntu; kubanga okulowooza okw'omu mutima gw'omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze. 01GEN008.022 While the earth remaineth, seedtime and harvest, and cold and heat, and summer and winter, and day and night shall not cease. %%% Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo. 01GEN009.001 And God blessed Noah and his sons, and said unto them, Be fruitful, and multiply, and replenish the earth. %%% Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi. 01GEN009.002 And the fear of you and the dread of you shall be upon every beast of the earth, and upon every fowl of the air, upon all that moveth upon the earth, and upon all the fishes of the sea; into your hand are they delivered. %%% N'ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe binaabanga ku buli nsolo ey'ensi, ne ku buli nnyonyi eya waggulu; era ne byonna ebijjuza olukalu, n'ebyennyanja byonna, biweereddwayo mu mukono gwammwe. 01GEN009.003 Every moving thing that liveth shall be meat for you; even as the green herb have I given you all things. %%% Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng'omuddo ogumera byonna mbibawadde. 01GEN009.004 But flesh with the life thereof, which is the blood thereof, shall ye not eat. %%% Naye ennyama awamu n'obulamu bwayo, gwe musaayi gwayo, temugiryanga. 01GEN009.005 And surely your blood of your lives will I require; at the hand of every beast will I require it, and at the hand of man; at the hand of every man's brother will I require the life of man. %%% Era omusaayi gwammwe, ogw'obulamu bwammwe, siiremenga kuguvunaana; eri buli nsolo nnaaguvunaananga: n'eri omuntu, eri buli muganda w'omuntu, n'avunaananga obulamu bw'omuntu. 01GEN009.006 Whoso sheddeth man's blood, by man shall his blood be shed: for in the image of God made he man %%% Buli muntu anaayiwanga omusaayi gw'omuntu, omusaayi gwe guyiyibwenga abantu: kubanga mu kifaananyi kya Katonda mwe yakolera abantu. 01GEN009.007 And you, be ye fruitful, and multiply; bring forth abundantly in the earth, and multiply therein %%% Nammwe mwalenga, mweyongerenga; muzaalenga nnyo ku nsi, mweyongerenga omwo. 01GEN009.008 And God spake unto Noah, and to his sons with him, saying, %%% Katonda n'agamba Nuuwa n'abaana be awamu naye, 01GEN009.009 And I, behold, I establish my covenant with you, and with your seed after you; %%% nti Nange, laba, nnywezezza endagaano yange nammwe era n'ezzadde lyammwe erinaddangawo; 01GEN009.010 And with every living creature that is with you, of the fowl, of the cattle, and of every beast of the earth with you; from all that go out of the ark, to every beast of the earth. %%% era na buli kiramu ekiri awamu nammwe, ennyonyi, ente, na buli nsolo ey'ensi awamu nammwe; byonna ebiva mu lyato, buli nsolo ey'ensi. 01GEN009.011 And I will establish my covenant with you; neither shall all flesh be cut off any more by the waters of a flood; neither shall there any more be a flood to destroy the earth. %%% Nange nnaanywezanga endagaano yange nammwe; so ebirina omubiri byonna tebikyazikirizibwa nate mulundi gwa kubiri n'amazzi ag'amataba; so tewakyabaawo mataba nate mulundi gwa kubiri okuzikiriza ensi. 01GEN009.012 And God said, This is the token of the covenant which I make between me and you and every living creature that is with you, for perpetual generations: %%% Katonda n'ayogera nti Kano ke kabonero ak'endagaano gye ndagaana nze nammwe na buli kitonde kiramu ekiri nammwe, okutuusa emirembe egitaliggwaawo: 01GEN009.013 I do set my bow in the cloud, and it shall be for a token of a covenant between me and the earth. %%%% nteeka musoke wange ku kire, era anaabanga kabonero ak'endagaano gye ndagaanye n'ensi. 01GEN009.014 And it shall come to pass, when I bring a cloud over the earth, that the bow shall be seen in the cloud: %%% Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku kire, 01GEN009.015 And I will remember my covenant, which is between me and you and every living creature of all flesh; and the waters shall no more become a flood to destroy all flesh. %%% nange najjukiranga endagaano yange, gye ndagaanye nze nammwe na buli kitonde kiramu ekirina omubiri kyonna; n'amazzi tegaafuukenga nate mataba okuzikiriza omubiri gwonna. 01GEN009.016 And the bow shall be in the cloud; and I will look upon it, that I may remember the everlasting covenant between God and every living creature of all flesh that is upon the earth. %%% Ne musoke anaabanga ku kire; nange naamutunuuliranga, njijukire endagaano eteridiba Katonda gy'alagaanye na buli kitonde ekiramu ekirina omubiri kyonna ekiri mu nsi. 01GEN009.017 And God said unto Noah, This is the token of the covenant, which I have established between me and all flesh that is upon the earth. %%% Katonda n'agamba Nuuwa nti Ako ke kabonero ak'endagaano gye nnywezezza nze na buli ekirina omubiri ekiri mu nsi. 01GEN009.018 And the sons of Noah, that went forth of the ark, were Shem, and Ham, and Japheth: and Ham is the father of Canaan. %%% N'abaana ba Nuuwa, abaava mu lyato, Seemu, ne Kaamu, ne Yafeesi: ne Kaamu ye yazaala Kanani. 01GEN009.019 These are the three sons of Noah: and of them was the whole earth overspread. %%%Abo bonsatule Nuuwa be yazaala: n'abazzukulu b'abo be baabuna ensi zonna. 01GEN009.020 And Noah began to be a husbandman, and he planted a vineyard: %%% Nuuwa n'atanula okuba omulimi, n'asimba olusuku olw'emizabbibu: 01GEN009.021 And he drank of the wine, and was drunken; and he was uncovered within his tent. %%% n'anywa ku mwenge gwalwo, n'atamiira: n'akunamira mu weema ye. 01GEN009.022 And Ham, the father of Canaan, saw the nakedness of his father, and told his two brethren without. %%% Kaamu, ye yazaala Kanani, n'alaba ensonyi za kitaawe, n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. 01GEN009.023 And Shem and Japheth took a garment, and laid it upon both their shoulders, and went backward, and covered the nakedness of their father; and their faces were backward, and they saw not their father's nakedness. %%% Seemu ne Yafeesi ne batoola ekyambalo, ne bakiteeka ku bibegabega byabwe bombi, ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku nsonyi za kitaabwe; era amaaso gaabwe nga gatunuulira nnyuma, ne batalaba nsonyi za kitaabwe. 01GEN009.024 And Noah awoke from his wine, and knew what his younger son had done unto him. %%% Nuuwa n'atamiirukuka mu mwenge gwe, n'amanya omwana we omuto bwe yamukola. 01GEN009.025 And he said, Cursed be Canaan; a servant of servants shall he be unto his brethren. %%% N'ayogera nti, Kanani akolimirwe; Anaabanga muddu w'abaddu eri baganda be. 01GEN009.026 And he said, Blessed be the LORD God of Shem; and Canaan shall be his servant. %%% Era yayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we. 01GEN009.027 God shall enlarge Japheth, and he shall dwell in the tents of Shem; and Canaan shall be his servant. %%% Katonda agaziye Yafeesi, Era atuulenga mu weema za Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we. 01GEN009.028 And Noah lived after the flood three hundred and fifty years. %%% Nuuwa n'awangaala amataba nga gamaze okubaawo emyaka bisatu mu ataano. 01GEN009.029 And all the days of Noah were nine hundred and fifty years: and he died. %%% N'ennaku zonna eza Nuuwa zaali myaka lwenda mu ataano: n'afa. 01GEN010.001 Now these are the generations of the sons of Noah, Shem, Ham, and Japheth: and unto them were sons born after the flood.%%% Ne kuno kwe kuzaala kw'abaana ba Nuuwa, Seemu, Kaamu ne Yafeesi: abaana ne babazaalirwa amataba nga gamaze okubaawo. 01GEN010.002 The sons of Japheth; Gomer, and Magog, and Madai, and Javan, and Tubal, and Meshech, and Tiras. %%%Abaana ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi. 01GEN010.003 And the sons of Gomer; Ashkenaz, and Riphath, and Togarmah.%%% N'abaana ba Gomeri: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma. 01GEN010.004 And the sons of Javan; Elishah, and Tarshish, Kittim, and Dodanim. %%% N'abaana ba Yavani: Erisa, ne Talusiisi, Kitimu, ne Dodanimu. 01GEN010.005 By these were the isles of the Gentiles divided in their lands; every one after his tongue, after their families, in their nations. %%%Abo be baagabirwa ebizinga eby'amawanga mu nsi zaabwe, buli muntu ng'olulimi lwe bwe lwali; ng'ebika byabwe bwe byali, mu mawanga gaabwe. 01GEN010.006 And the sons of Ham; Cush, and Mizraim, and Phut, and Canaan. %%% N'abaana ba Kaamu: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani. 01GEN010.007 And the sons of Cush; Seba, and Havilah, and Sabtah, and Raamah, and Sabtechah: and the sons of Raamah; Sheba, and Dedan.%%% N'abaana ba Kuusi: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka: n'abaana ba Laama: Seeba, ne Dedaai. 01GEN010.008 And Cush begat Nimrod: he began to be a mighty one in the earth. %%% Kuusi n'azaala Nimuloodi; n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi. 01GEN010.009 He was a mighty hunter before the Lord : wherefore it is said, Even as Nimrod the mighty hunter before the Lord. %%%Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama: kyekiva kyogerwa nti Nga Nimuloodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso ga Mukama. 01GEN010.010 And the beginning of his kingdom was Babel, and Erech, and Accad, and Calneh, in the land of Shinar. %%% N'okusooka kw'obwakabaka bwe kwali Baberi, ne Ereki, ne Akudi, ne Kalune, mu nsi Sinali. 01GEN010.011 Out of that land went forth Asshur, and builded Nineveh, and the city Rehoboth, and Calah, %%% N'ava mu nsi omwo n'agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala, 01GEN010.012 And Resen between Nineveh and Calah: the same is a great city. %%%ne Leseni ekiri wakati wa Nineeve ne Kala (ekyo kye kibuga ekinene). 01GEN010.013 And Mizraim begat Ludim, and Anamim, and Lehabim, and Naphtuhim, %%% Mizulayimu n'azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 01GEN010.014 And Pathrusim, and Casluhim, (out of whom came Philistim,) and Caphtorim. %%% ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti), ne Kafutolimu. 01GEN010.015 And Canaan begat Sidon his first born, and Heth, %%% Kanani n'azaala Zidoni omubereberye we, ne Keesi, 01GEN010.016 And the Jebusite, and the Amorite, and the Girgasite, %%% n'Omuyebusi, n'Omwamoli, n'Omugirugaasi; 01GEN010.017 And the Hivite, and the Arkite, and the Sinite; %%% n'Omukiivi, n'Omwaluki, n'Omusiini; 01GEN010.018 And the Arvadite, and the Zemarite, and the Hamathite: and afterward were the families of the Canaanites spread abroad. %%% n'Omwaluvada, n'Omuzemali, n'Omukamasi; n'ebika eby'Omukanani ne biddirira abo okubuna. 01GEN010.019 And the border of the Canaanites was from Sidon, as thou comest to Gerar, unto Gaza; as thou goest, unto Sodom, and Gomorrah, and Admah, and Zeboiim, even unto Lasha. %%% N'ensalo ey'Omukanani yava mu Zidoni, ng'ogenda e Gerali, n'etuuka ku Gaza; era yatuuka ku Lasa, ng'ogenda e Sodoma ne Ggomola ne Aduma ne Zeboyimu. 01GEN010.020 These are the sons of Ham, after their families, after their tongues, in their countries, and in their nations. %%% Abo be baana ba Kaamu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, mu mawanga gaabwe. 01GEN010.021 Unto Shem also, the father of all the children of Eber, the brother of Japheth the elder, even to him were children born. %%% Era ne Seemu, jjajja w'abaana bonna aba Eberi, muganda wa Yafeesi omukulu, naye n'azaalirwa abaana. 01GEN010.022 The children of Shem; Elam, and Asshur, and Arphaxad, and Lud, and Aram. %%% Abaana ba Seemu: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi ne Ludi, ne Alamu. 01GEN010.023 And the children of Aram; Uz, and Hul, and Gether, and Mash. %%% N'abaana ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri, ne Masi. 01GEN010.024 And Arphaxad begat Salah; and Salah begat Eber. %%% Ne Alupakusaadi n'azaala Seera; Seera n'azaala Eberi. 01GEN010.025 And unto Eber were born two sons: the name of one was Peleg; for in his days was the earth divided; and his brother's name was Joktan. %%% Eberi n'azaalirwa abaana babiri: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi zonna mwe zaagabirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani. 01GEN010.026 And Joktan begat Almodad, and Sheleph, and Hazarmaveth, and Jerah, %%%Yokutaani n'azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera; 01GEN010.027 And Hadoram, and Uzal, and Diklah, %%% ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 01GEN010.028 And Obal, and Abimael, and Sheba, %%% Ane Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba; 01GEN010.029 And Ophir, and Havilah, and Jobab: all these were the sons of Joktan. %%% ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu: abo bonna baana ba Yokutaani. 01GEN010.030 And their dwelling was from Mesha, as thou goest unto Sephar a mount of the east. %%% N'ensi gye baatuulamu yava ku Mesa, ng'ogenda e Serali, olusozi olw'ebuvanjuba. 01GEN010.031 These are the sons of Shem, after their families, after their tongues, in their lands, after their nations. %%% Abo be baana ba Seemu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, amawanga gaabwe nga bwe gaali. 01GEN010.032 These are the families of the sons of Noah, after their generations, in their nations: and by these were the nations divided in the earth after the flood. %%% Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe: era mu abo mwe gaava amawanga okwawulirwa mu nsi amataba nga gamaze okubaawo. 01GEN011.001 And the whole earth was of one language, and of one speech. %%%N'ensi zonna zaalina olulimi lumu n'enjogera emu. 01GEN011.002 And it came to pass, as they journeyed from the east, that they found a plain in the land of Shinar; and they dwelt there. %%%Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi Sinali; ne batuula omwo. 01GEN011.003 And they said one to another, Go to, let us make brick, and burn them thoroughly. And they had brick for stone, and slime had they for morter. %%% Ne bagambagana nti Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala. Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebitosi mu kifo ky'ennoni. 01GEN011.004 And they said, Go to, let us build us a city and a tower, whose top may reach unto heaven; and let us make us a name, lest we be scattered abroad upon the face of the whole earth. %%%Ne boogera nti Kale nno, twezimbire ekibuga, n'ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna. 01GEN011.005 And the Lord came down to see the city and the tower, which the children of men builded. %%% Mukama n'akka okulaba ebibuga n'ekigo, abaana b'abantu bye bazimba. 01GEN011.006 And the LORD said, Behold, the people is one, and they have all one language; and this they begin to do: and now nothing will be restrained from them, which they have imagined to do. %%% Mukama n'ayogera nti Laba, abo lye ggwanga limu, era bonna baalina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola. 01GEN011.007 Go to, let us go down, and there confound their language, that they may not understand one another's speech. %%% Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera yaabwe bokka na bokka. 01GEN011.008 So the LORD scattered them abroad from thence upon the face of all the earth: and they left off to build the city. %%% Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga. 01GEN011.009 Therefore is the name of it called Babel; because the LORD did there confound the language of all the earth: and from thence did the LORD scatter them abroad upon the face of all the earth. %%% Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna: n'okuva eyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna. 01GEN011.010 These are the generations of Shem: Shem was an hundred years old, and begat Arphaxad two years after the flood: %%% Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu yali yaakamaze emyaka kikumi, n'azaala Alupakusaadi amataba nga gaakamaze emyaka ebiri okubaawo: 01GEN011.011 And Shem lived after he begat Arphaxad five hundred years, and begat sons and daughters. %%% Seemu n'awangaala bwe yamala okuzaala Alupakusaadi emyaka bitaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.012 And Arphaxad lived five and thirty years, and begat Salah: %%% Alupakusaadi n'amala emyaka asatu mu etaano, n'azaala Seera: 01GEN011.013 And Arphaxad lived after he begat Salah four hundred and three years, and begat sons and daughters. %%% Alupakusaadi n'awangaala bwe yamala okuzaala Seera emyaka bina mu esatu, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.014 And Salah lived thirty years, and begat Eber: %%% Seera n'amala emyaka asatu, n'azaala Eberi: 01GEN011.015 And Salah lived after he begat Eber four hundred and three years, and begat sons and daughters. %%% Seera n'awangaala bwe yamala okuzaala Eberi emyaka bina mu esatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.016 And Eber lived four and thirty years, and begat Peleg: %%% Eberi n'amala emyaka asatu mu ena, n'azaala Peregi: 01GEN011.017 And Eber lived after he begat Peleg four hundred and thirty years, and begat sons and daughters. %%% Ebezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Peregi emyaka bina mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.018 And Peleg lived thirty years, and begat Reu: %%% Peregi n'amala emyaka asatu, n'azaala Leewo: 01GEN011.019 And Peleg lived after he begat Reu two hundred and nine years, and begat sons and daughters. %%% Peregi n'awangala bwe yamala okuzaala Leewo emyaka bibiri mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.020 And Reu lived two and thirty years, and begat Serug: %%% Leewo n'amala emyaka asatu mu ebiri, n'azaala Serugi; 01GEN011.021 And Reu lived after he begat Serug two hundred and seven years, and begat sons and daughters. %%% Leewo n'awangaala bwe yamala okuzaala Serugi emyaka bibiri mu musanvu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.022 And Serug lived thirty years, and begat Nahor: %%% Serugi n'amala emyaka asatu, n'azaala Nakoli: 01GEN011.023 And Serug lived after he begat Nahor two hundred years, and begat sons and daughters. %%% Serugi n'awangaala bwe yamala okuzaala Nakoli, emyaka bibiri, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.024 And Nahor lived nine and twenty years, and begat Terah: %%% Nakoli n'amala emyaka abiri mu mwenda, n'azaala Teera: 01GEN011.025 And Nahor lived after he begat Terah an hundred and nineteen years, and begat sons and daughters. %%% Nakoli n'awangaala bwe yamala okuzaala Teera emyaka kikumi mu kkumi mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 01GEN011.026 And Terah lived seventy years, and begat Abram, Nahor, and Haran. %%% Teera n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani. 01GEN011.027 Now these are the generations of Terah: Terah begat Abram, Nahor, and Haran; and Haran begat Lot. %%% Era kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti. 01GEN011.028 And Haran died before his father Terah in the land of his nativity, in Ur of the Chaldees. %%% Kalani n'afiira awali kitaawe mu nsi mwe yazaalirwa, mu Uli, y'ensi ey'Abakaludaaya. 01GEN011.029 And Abram and Nahor took them wives: the name of Abram's wife was Sarai; and the name of Nahor's wife, Milcah, the daughter of Haran, the father of Milcah, and the father of Iscah. %%% Ne Ibulaamu ne Nakoli ne beewasiza abakazi: omukazi wa Ibulaamu erinnya lye Salaayi; n'omukazi wa Nakoli erinnya lye Mirika, omwana wa Kalani, ye kitaawe wa Mirika, era kitaawe wa lsika. 01GEN011.030 But Sarai was barren; she had no child. %%% Era Salaayi yali mugumba; teyalina mwana. 01GEN011.031 And Terah took Abram his son, and Lot the son of Haran his son's son, and Sarai his daughter in law, his son Abram's wife; and they went forth with them from Ur of the Chaldees, to go into the land of Canaan; and they came unto Haran, and dwelt there. %%% Teera n'atwala Ibulaamu omwana we, ne Lutti, omwana wa Kalani, omuzzukulu we, ne Salaayi muka mwana we, omukazi w'omwana we Ibulaamu; ne bavaayo nabo mu Uli, ye ensi ey'Abakaludaaya, okuyingira mu nsi ya Kanani; ne batuuka e Kalani, ne batuula eyo. 01GEN011.032 And the days of Terah were two hundred and five years: and Terah died in Haran. %%% N'ennaku za Teera zaali emyaka bibiri mu etaano: Tera n'afiira mu Kalani. 01GEN012.001 Now the LORD had said unto Abram, Get thee out of thy country, and from thy kindred, and from thy father's house, unto a land that I will shew thee: %%% Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n'ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: 01GEN012.002 And I will make of thee a great nation, and I will bless thee, and make thy name great; and thou shalt be a blessing: %%% nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: 01GEN012.003 And I will bless them that bless thee, and curse him that curseth thee: and in thee shall all families of the earth be blessed. %%% nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa. 01GEN012.004 So Abram departed, as the LORD had spoken unto him; and Lot went with him: and Abram was seventy and five years old when he departed out of Haran. %%% Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye: Ibulaamu yali yaakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani. 01GEN012.005 And Abram took Sarai his wife, and Lot his brother's son, and all their substance that they had gathered, and the souls that they had gotten in Haran; and they went forth to go into the land of Canaan; and into the land of Canaan they came. %%% Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza; n'abantu be baafunira mu Kalaani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani. 01GEN012.006 And Abram passed through the land unto the place of Sichem, unto the plain of Moreh. And the Canaanite was then in the land. %%% Ibulaamu n'ayita mu nsi n'atuuka mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanaani yali mu nsi mu biro ebyo. 01GEN012.007 And the LORD appeared unto Abram, and said, Unto thy seed will I give this land: and there builded he an altar unto the LORD, who appeared unto him. %%% Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama eyamulabikira. 01GEN012.008 And he removed from thence unto a mountain on the east of Bethel, and pitched his tent, having Bethel on the west, and Hai on the east: and there he builded an altar unto the LORD, and called upon the name of the LORD. %%% N'avaayo n'agenda awali olusozi ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Beseri, n'asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw'ebuvanjuba: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akaabira erinnya lya Mukama. 01GEN012.009 And Abram journeyed, going on still toward the south. %%% Ibulaamu n'atambula, ng'akyakwata ekkubo ery'obukiika obwa ddyo. 01GEN012.010 And there was a famine in the land: and Abram went down into Egypt to sojourn there; for the famine was grievous in the land. %%% Ne wagwa enjala mu nsi: Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi. 01GEN012.011 And it came to pass, when he was come near to enter into Egypt, that he said unto Sarai his wife, Behold now, I know that thou art a fair woman to look upon: %%% Awo, bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri, n'alyoka agamba Salaayi mukazi we nti Laba, mmanyi nga gw'oli mukazi mulungi okutunuulira: 01GEN012.012 Therefore it shall come to pass, when the Egyptians shall see thee, that they shall say, This is his wife: and they will kill me, but they will save thee alive. %%% kale, Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti Oyo ye mukazi we: era balinzita, nze, naye ggwe balikuwonya mulamu. 01GEN012.013 Say, I pray thee, thou art my sister: that it may be well with me for thy sake; and my soul shall live because of thee. %%% Oyogeranga, nkwegayiridde, nga gw'oli mwannyinaze: ndyoke ndabe ebirungi ku bubwo, n'obulamu bwange buwone ku lulwo. 01GEN012.014 And it came to pass, that, when Abram was come into Egypt, the Egyptians beheld the woman that she was very fair. %%% Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo. 01GEN012.015 The princes also of Pharaoh saw her, and commended her before Pharaoh: and the woman was taken into Pharaoh's house. %%% N'abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo. 01GEN012.016 And he entreated Abram well for her sake: and he had sheep, and oxen, and he asses, and menservants, and maidservants, and she asses, and camels. %%% N'akola bulungi Ibulaamu ku bubwe: n'aba n'endiga, n'ente, n'endogoyi ensajja, n'abaddu, n'abazaana, n'endogoyi enkazi, n'eŋŋamira. 01GEN012.017 And the LORD plagued Pharaoh and his house with great plagues because of Sarai Abram's wife. %%% Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'ebibonoobono ebikulu olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 01GEN012.018 And Pharaoh called Abram, and said, What is this that thou hast done unto me? why didst thou not tell me that she was thy wife? %%% Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti Kino kiki ky'onkoze? kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo? 01GEN012.019 Why saidst thou, She is my sister? so I might have taken her to me to wife: now therefore behold thy wife, take her, and go thy way. %%% Kiki ekyakwogeza nti Ye mwannyinaze, nange n'okutwala ne mmutwala okuba mukazi wange: kale kaakano laba mukazi wo, omutwale, weegendere. 01GEN012.020 And Pharaoh commanded his men concerning him: and they sent him away, and his wife, and all that he had. %%% Falaawo n'amulagiririza abasajja: ne bamuwerekerako ye ne mukazi we ne byonna bye yalina. 01GEN013.001 And Abram went up out of Egypt, he, and his wife, and all that he had, and Lot with him, into the south.%%% Ibulaamu n'alinnya n'ava mu Misiri, ye ne mukazi we ne byonna bye yalina, ne Lutti wamu naye, ne bagenda mu bukiika obwa ddyo. 01GEN013.002 And Abram was very rich in cattle, in silver, and in gold. %%% Era Ibulaamu yalina obugagga bungi, ente, ne ffeeza, ne zaabu. 01GEN013.003 And he went on his journeys from the south even to Bethel, unto the place where his tent had been at the beginning, between Bethel and Hai; %%% N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiika obwa ddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi; 01GEN013.004 Unto the place of the altar, which he had made there at the first: and there Abram called on the name of the LORD. %%% mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye: Ibulaamu n'akaabira eyo erinnya lya Mukama. 01GEN013.005 And Lot also, which went with Abram, had flocks, and herds, and tents. %%% Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema. 01GEN013.006 And the land was not able to bear them, that they might dwell together: for their substance was great, so that they could not dwell together. %%% Ensi n'etebayinza bombi okutuula awamu: kubanga ebintu byabwe byali bingi, n'okuyinza ne batayinza kutuula wamu. 01GEN013.007 And there was a strife between the herdmen of Abram's cattle and the herdmen of Lot's cattle: and the Canaanite and the Perizzite dwelled then in the land. %%% Ne wabaawo empaka eri abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti: era Omukanani n'Omuperizi baatuula mu nsi mu nnaku ezo. 01GEN013.008 And Abram said unto Lot, Let there be no strife, I pray thee, between me and thee, and between my herdmen and thy herdmen; for we be brethren. %%% Ibulaamu n'agamba Lutti nti Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n'eri abasumba bange n'abasumba bo; kubanga tuli ba luganda. 01GEN013.009 Is not the whole land before thee? separate thyself, I pray thee, from me: if thou wilt take the left hand, then I will go to the right; or if thou depart to the right hand, then I will go to the left. %%% Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange naagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw'oneeroboza omukono ogwa ddyo, nange naagenda ku mukono ogwa kkono. 01GEN013.010 And Lot lifted up his eyes, and beheld all the plain of Jordan, that it was well watered every where, before the LORD destroyed Sodom and Gomorrah, even as the garden of the LORD, like the land of Egypt, as thou comest unto Zoar. %%% Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, nga mulimu amazzi mangi wonna wonna, Mukama nga tannazikiriza Sodoma ne Ggomola, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, ng'ensi y'e Misiri, ng'ogenda mu Zowaali. 01GEN013.011 Then Lot chose him all the plain of Jordan; and Lot journeyed east: and they separated themselves the one from the other. %%% Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani; Lutti n'atambula ebuvanjuba: ne baawukana bokka na bokka. 01GEN013.012 Abram dwelled in the land of Canaan, and Lot dwelled in the cities of the plain, and pitched his tent toward Sodom. %%% Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma. 01GEN013.013 But the men of Sodom were wicked and sinners before the LORD exceedingly. %%% N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyini mu maaso ga Mukama. 01GEN013.014 And the LORD said unto Abram, after that Lot was separated from him, Lift up now thine eyes, and look from the place where thou art northward, and southward, and eastward, and westward: %%% Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba: 01GEN013.015 For all the land which thou seest, to thee will I give it, and to thy seed for ever. %%% kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigiwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna. 01GEN013.016 And I will make thy seed as the dust of the earth: so that if a man can number the dust of the earth, then shall thy seed also be numbered. %%% Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi: era omuntu bw'ayinza okubala enfuufu ey'oku nsi, era n'ezzadde lyo liribalika. 01GEN013.017 Arise, walk through the land in the length of it and in the breadth of it; for I will give it unto thee. %%% Golokoka, otambule obune ensi obuwanvu bwayo n'obugazi bwayo; kubanga ndigiwa ggwe. 01GEN013.018 Then Abram removed his tent, and came and dwelt in the plain of Mamre, which is in Hebron, and built there an altar unto the LORD. %%% Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule, egiri mu Kebbulooni, n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama. 01GEN014.001 And it came to pass in the days of Amraphel king of Shinar, Arioch king of Ellasar, Chedorlaomer king of Elam, and Tidal king of nations; %%% Awo mu mirembe gya Amulaferi kabaka w'e Sinali, Aliyoki, kabaka w'e Erasali, Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, n'egya Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, 01GEN014.002 That these made war with Bera king of Sodom, and with Birsha king of Gomorrah, Shinab king of Admah, and Shemeber king of Zeboiim, and the king of Bela, which is Zoar. %%% ne balwana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali). 01GEN014.003 All these were joined together in the vale_of_Siddim, which is the salt_sea. %%% Abo bonna ne beegattira mu kiwonvu Sidimu (eyo ye nnyanja ey'omunnyo): 01GEN014.004 Twelve years they served Chedorlaomer, and in the thirteenth year they rebelled. %%% Ne baweerereza Kedolawomeeri emyaka kkumi n'ebiri, ne mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ne bajeema. 01GEN014.005 And in the fourteenth year came Chedorlaomer, and the kings that were with him, and smote the Rephaims in Ashteroth_Karnaim, and the Zuzims in Ham, and the Emims in Shaveh_Kiriathaim, %%% Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ena Kedolawomeeri n'ajja, ne bakabaka abaali awamu naye, ne bakubira Abaleefa mu Asuterosikalumayimu, n'Abazuuzi mu Kaamu, n'Abemi mu Savekiriyasayimu, 01GEN014.006 And the Horites in their mount_Seir, unto Elparan, which is by the wilderness. %%% n'Abakooli ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuusa Erupalaani ekiri okumpi n'eddungu. 01GEN014.007 And they returned, and came to Enmishpat, which is Kadesh, and smote all the country of the Amalekites, and also the Amorites, that dwelt in Hazezontamar. %%% Ne baddayo ne batuuka e Nuumisupaati (ye Kadesi), ne bakuba ensi yonna eya Abameleki, era n'eya Abamoli, abaatuula mu Kazazonutamali. 01GEN014.008 And there went out the king of Sodom, and the king of Gomorrah, and the king of Admah, and the king of Zeboiim, and the king of Bela (the same is Zoar;) and they joined battle with them in the vale of Siddim; %%% Ne watabaala kabaka w'e Sodoma, ne kabaka w'e Ggomola, ne kabaka w'e Aduma, ne kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali); ne bategeka olutalo okulwanira nabo mu kiwonvu Sidimu; 01GEN014.009 With Chedorlaomer the king of Elam, and with Tidal king of nations, and Amraphel king of Shinar, and Arioch king of Ellasar; four kings with five. %%% okulwana ne Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, ne Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, ne Amulafeeri, kabaka w'e Sinali, ne Aliyooki kabaka w'e Erasali: bakabaka abana nga balwana n'abataano. 01GEN014.010 And the vale of Siddim was full of slimepits; and the kings of Sodom and Gomorrah fled, and fell there; and they that remained fled to the mountain. %%% Era ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obw'ebitosi; ne bakabaka w’e Sodoma ne Ggomola ne badduka, ne bagwa omwo, n'abo abaasigalawo ne baddukira ku lusozi. 01GEN014.011 And they took all the goods of Sodom and Gomorrah, and all their victuals, and went their way. %%% Ne banyaga abintu byonna eby'omu Sodoma ne Ggomola, n'ebyokulya byabwe byonna, ne beegendera. 01GEN014.012 And they took Lot, Abram's brother's son, who dwelt in Sodom, and his goods, and departed. %%% Ne banyaga Lutti, omwana wa muganda wa Ibulaamu, eyatuulanga mu Sodoma, n'ebintu bye, ne bagenda. 01GEN014.013 And there came one that had escaped, and told Abram the Hebrew; for he dwelt in the plain of Mamre the Amorite, brother of Eshcol, and brother of Aner: and these were confederate with Abram. %%% Ne wajja omu eyawonawo, n'abuulira Ibulaamu Omwebbulaniya: oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; nabo baali nga balagaanye ne Ibulaamu. 01GEN014.014 And when Abram heard that his brother was taken captive, he armed his trained servants, born in his own house, three hundred and eighteen, and pursued them unto Dan. %%% Ibulaamu bwe yawulira nga baanyaga muganda we, n'agenda ne basajja be abaayigirizibwa okulwana, abaazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi mu munaana, ne babagoberera okutuusa ku Ddaani. 01GEN014.015 And he divided himself against them, he and his servants, by night, and smote them, and pursued them unto Hobah, which is on the left hand of Damascus. %%% Ne baawukanamu okubalumba ekiro, ye n'abaddu be, ne babakuba, ne babagoberera okutuusa ku Kkoba, ekiri ku mukono ogwa kkono ogw'e Ddamasiko. 01GEN014.016 And he brought back all the goods, and also brought again his brother Lot, and his goods, and the women also, and the people. %%% N'akomyawo ebintu byonna, era n'akomyawo ne muganda we Lutti, n'ebintu bye, era n'abakazi, n'abantu. 01GEN014.017 And the king of Sodom went out to meet him after his return from the slaughter of Chedorlaomer, and of the kings that were with him, at the valley of Shaveh, which is the king's dale. %%% Ne kabaka w'e Sodoma n'afuluma okumusisinkana, bwe yamala okukomawo ng'asse Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, mu kiwonvu Save (kye kiwonvu kya kabaka). 01GEN014.018 And Melchizedek king of Salem brought forth bread and wine: and he was the priest of the most high God. %%% Ne Merukizeddeeki kabaka w'e Ssaalemi n'aleta emmere n'omwenge: era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo. 01GEN014.019 And he blessed him, and said, Blessed be Abram of the most high God, possessor of heaven and earth: %%% N'amusabira omukisa, n'ayogera nti Ibulaamu aweebwe omukisa, Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi: 01GEN014.020 And blessed be the most high God, which hath delivered thine enemies into thy hand. And he gave him tithes of all. %%% era Katonda ali waggulu ennyo atenderezebwe akugabidde abalabe bo mu mukono gwo. N'amuwa ekitundu eky'ekkumi ekya byonna. 01GEN014.021 And the king of Sodom said unto Abram, Give me the persons, and take the goods to thyself. %%% Kabaka w'e Sodoma n'agamba Ibulaamu nti Mpa nze abantu, ebintu obyetwalire ggwe. 01GEN014.022 And Abram said to the king of Sodom, I have lift up mine hand unto the LORD, the most high God, the possessor of heaven and earth, %%% Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti Nnyimusizza omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi, 01GEN014.023 That I will not take from a thread even to a shoelatchet, and that I will not take any thing that is thine, lest thou shouldest say, I have made Abram rich: %%% nga ndayira nti siritwala kaggwa newakubadde akakoba k'engatto newakubadde akantu konna k'olina, oleme okwogera nti Mmugaggawazizza Ibulaamu: 01GEN014.024 Save only that which the young men have eaten, and the portion of the men which went with me, Aner, Eshcol, and Mamre; let them take their portion. %%% wabula ebyo abavubuka bye balidde, n'omugabo gw'abasajja abaagenda nange; Aneri, Esukoli; ne Mamule abo batwale omugabo gwabwe. 01GEN015.001 After these things the word of the LORD came unto Abram in a vision, saying, Fear not, Abram: I am thy shield, and thy exceeding great reward. %%% Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti Totya, Ibulaamu: nze ngabo yo, n'empeera yo ennene ennyo. 01GEN015.002 And Abram said, LORD God, what wilt thou give me, seeing I go childless, and the steward of my house is this Eliezer of Damascus? %%% Ibulaamu n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, onompa ki, kubanga ntambula nga sirina mwana, naye alirya ennyumba yange ye Ddamesiko Erieza? 01GEN015.003 And Abram said, Behold, to me thou hast given no seed: and, lo, one born in my house is mine heir. %%% Ibulaamu n'ayogera nti Laba, nze tompadde zadde: era, laba, eyazaalirwa mu nnyumba yange ye musika wange. 01GEN015.004 And, behold, the word of the LORD came unto him, saying, This shall not be thine heir; but he that shall come forth out of thine own bowels shall be thine heir. %%% Era, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, nga kyogera nti Omuntu oyo taliba musika wo; naye aliva mu ntumbwe zo ggwe ye aliba omusika wo. 01GEN015.005 And he brought him forth abroad, and said, Look now toward heaven, and tell the stars, if thou be able to number them: and he said unto him, So shall thy seed be. %%% N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw'onooyinza okuzibala: n'amugamba nti Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo. 01GEN015.006 And he believed in the LORD; and he counted it to him for righteousness. %%% N'akkiriza Mukama; n'akumubalira okuba obutuukirivu. 01GEN015.007 And he said unto him, I am the LORD that brought thee out of Ur of the Chaldees, to give thee this land to inherit it. %%% N'amugamba nti Nze, Mukama eyakuggya mu Uli eya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira. 01GEN015.008 And he said, LORD God, whereby shall I know that I shall inherit it? %%% N'ayogera nti Ai Mukama Katonda, kiki ekinantegeeza nga ndigisikira? 01GEN015.009 And he said unto him, Take me an heifer of three years old, and a she goat of three years old, and a ram of three years old, and a turtledove, and a young pigeon. %%% N'amugamba nti Ontwalire ente enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'embuzi enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'endiga ensajja eyaakamaze emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto. 01GEN015.010 And he took unto him all these, and divided them in the midst, and laid each piece one against another: but the birds divided he not. %%% Ne yeetwalira ebyo byonna, n'abyasaamu wakati, n'ateeka ebitundu bibiri bibiri nga birabagana: naye ebinyonyi n'atabyaasaamu. 01GEN015.011 And when the fowls came down upon the carcases, Abram drove them away. %%% N'amasega ne gagwa ku mirambo, Ibulaamu n'agagoba. 01GEN015.012 And when the sun was going down, a deep sleep fell upon Abram; and, lo, an horror of great darkness fell upon him. %%% Awo enjuba bwe yali ng'egwa, otulo otungi ne tugwa ku Ibulaamu; era, laba, entiisa ey'ekizikiza ekikutte n'emugwako. 01GEN015.013 And he said unto Abram, Know of a surety that thy seed shall be a stranger in a land that is not theirs, and shall serve them; and they shall afflict them four hundred years; %%% N'agamba Ibulaamu nti Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaabwe, era balibaweereza; era balibabonyezabonyeza emyaka bina; 01GEN015.014 And also that nation, whom they shall serve, will I judge: and afterward shall they come out with great substance. %%% era n'eggwanga eryo, lye baliweereza, ndirisalira omusango: ne balyoka bavaamu nga balina ebintu bingi. 01GEN015.015 And thou shalt go to thy fathers in peace; thou shalt be buried in a good old age. %%% Naye ggwe oligenda awali bajjajja bo n'emirembe; oliziikibwa bw'olimala okuwangaala obulungi. 01GEN015.016 But in the fourth generation they shall come hither again: for the iniquity of the Amorites is not yet full. %%% Ne mu mirembe egy'okuna balikomawo nate wano: kubanga obutali butuukirivu obw'Omwamoli tebunnatuukirira. 01GEN015.017 And it came to pass, that, when the sun went down, and it was dark, behold a smoking furnace, and a burning lamp that passed between those pieces. %%% Awo, enjuba bwe yamala okugwa, ekizikiza nga kikutte, laba, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne biyita wakati awali ebitundu ebyo. 01GEN015.018 In the same day the LORD made a covenant with Abram, saying, Unto thy seed have I given this land, from the river of Egypt unto the great river, the river Euphrates: %%% Ku lunaku olwo Mukama n'alagaana ne Ibulaamu, ng'ayogera nti Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 01GEN015.019 The Kenites, and the Kenizzites, and the Kadmonites, %%% Omukeeni, n'Omukenizi, n'Omukadumooni, 01GEN015.020 And the Hittites, and the Perizzites, and the Rephaims, %%% n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Abaleefa, 01GEN015.021 And the Amorites, and the Canaanites, and the Girgashites, and the Jebusites. %%% n'Omwamoli, n'Omukanani, n'Omugirugaasi, n'Omuyebusi. 01GEN016.001 Now Sarai Abram's wife bare him no children: and she had an handmaid, an Egyptian, whose name was Hagar. %%% Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atamuzaalira baana: era yalina omuzaana, Omumisiri, erinnya lye Agali. 01GEN016.002 And Sarai said unto Abram, Behold now, the LORD hath restrained me from bearing: I pray thee, go in unto my maid; it may be that I may obtain children by her. And Abram hearkened to the voice of Sarai. %%% Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Laba nno, Mukama anziyizza okuzaalanga; nkwegayiridde, yingira eri omuzaana wange, mpozzi ndifuna abaana mu ye. Ibulaamu n'awulira eddoboozi lya Salaayi. 01GEN016.003 And Sarai Abram's wife took Hagar her maid the Egyptian, after Abram had dwelt ten years in the land of Canaan, and gave her to her husband Abram to be his wife. %%% Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atwala Agali, Omumisiri, muzaana we, Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka ekkumi okutuula mu nsi ya Kanani, n'amuwa Ibulaamu musajja we okuba mukazi we. 01GEN016.004 And he went in unto Hagar, and she conceived: and when she saw that she had conceived, her mistress was despised in her eyes. %%% N'ayingira eri Agali, naye n'aba olubuto: awo bwe yalaba ng'ali lubuto, mugole we n'anyoomebwa mu maaso ge. 01GEN016.005 And Sarai said unto Abram, My wrong be upon thee: I have given my maid into thy bosom; and when she saw that she had conceived, I was despised in her eyes: the LORD judge between me and thee. %%% Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Okwonoona kwange kube ku ggwe: nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo; kale bwe yalaba ng'ali lubuto, ne nnyoomebwa mu maaso ge: Mukama atusalire omusango nze naawe. 01GEN016.006 But Abram said unto Sarai, Behold, thy maid is in thy hand; do to her as it pleaseth thee. And when Sarai dealt hardly with her, she fled from her face. %%% Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti Laba, omuzaana wo ali mu mukono gwo; mukolere ekifaanana ekirungi mu maaso go. Salaayi, n'amujoganga, n'adduka mu maaso ge. 01GEN016.007 And the angel of the LORD found her by a fountain of water in the wilderness, by the fountain in the way to Shur. %%% Ne malayika wa Mukama n'amulabira awali oluzzi olw'amazzi mu ddungu, oluzzi oluli mu kkubo ng'ogenda e Ssuuli. 01GEN016.008 And he said, Hagar, Sarai's maid, whence camest thou? and whither wilt thou go? And she said, I flee from the face of my mistress Sarai. %%% N'ayogera nti Agali, muzaana wa Salaayi, ova wa? era ogenda wa? Naye n'ayogera nti Nziruka mu maaso ga mugole wange Salaayi. 01GEN016.009 And the angel of the LORD said unto her, Return to thy mistress, and submit thyself under her hands. %%% Ne malayika wa Mukama n'amugamba nti Ddayo eri mugole wo, ogonde wansi w'emikono gye. 01GEN016.010 And the angel of the LORD said unto her, I will multiply thy seed exceedingly, that it shall not be numbered for multitude. %%% Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Ndyongera nnyo ezzadde lyo, n'okubala ne litabalika olw'obungi. 01GEN016.011 And the angel of the LORD said unto her, Behold, thou art with child, and shalt bear a son, and shalt call his name Ishmael; because the LORD hath heard thy affliction. %%% Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Laba, oli lubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri, kubanga Mukama awulidde okubonyabonyezebwa kwo. 01GEN016.012 And he will be a wild man; his hand will be against every man, and every man's hand against him; and he shall dwell in the presence of all his brethren. %%% Era aliba ng'entulege mu bantu; omukono gwe gunaalwananga na buli muntu, n'omukono gwa buli muntu gunaalwananga naye; era anaatuulanga awali baganda be bonna. 01GEN016.013 And she called the name of the LORD that spake unto her, Thou God seest me: for she said, Have I also here looked after him that seeth me? %%% N'ayita erinnya lya Mukama eyayogera naye, nti Ggwe Katonda alaba: kubanga yayogera nti N'okutunula ntunuulidde oyo andaba? 01GEN016.014 Wherefore the well was called Beerlahairoi; behold, it is between Kadesh and Bered. %%% Oluzzi kyerwava luyitibwa Beerirakairo: laba, luli wakati wa Kadesi ne Beredi. 01GEN016.015 And Hagar bare Abram a son: and Abram called his son's name, which Hagar bare, Ishmael. %%% Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana we, Agali gwe yazaala, erinnya lye Isimaeri. 01GEN016.016 And Abram was fourscore and six years old, when Hagar bare Ishmael to Abram. %%% Ibulaamu yali yaakamaze emyaka kinaana mu mukaaga, Agali bwe yazaalira Ibulaamu Isimaeri. 01GEN017.001 And when Abram was ninety years old and nine, the LORD appeared to Abram, and said unto him, I am the Almighty God; walk before me, and be thou perfect. %%% Awo Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu maaso gange, obeerenga mutuukirivu. 01GEN017.002 And I will make my covenant between me and thee, and will multiply thee exceedingly. %%% Nange ndiragaana endagaano yange nze naawe, era ndikwaza nnyo. 01GEN017.003 And Abram fell on his face: and God talked with him, saying, %%% Ibulaamu n'avuunama amaaso ge: Katonda n'ayogera naye nti 01GEN017.004 As for me, behold, my covenant is with thee, and thou shalt be a father of many nations. %%% Nze, laba, endagaano yange eri naawe, naawe oliba kitaawe w'amawanga amangi. 01GEN017.005 Neither shall thy name any more be called Abram, but thy name shall be Abraham; for a father of many nations have I made thee. %%% So tokyayitibwanga nate erinnya lyo Ibulaamu, naye erinnya lyo linaabanga Ibulayimu; kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi. 01GEN017.006 And I will make thee exceeding fruitful, and I will make nations of thee, and kings shall come out of thee. %%% Era ndikwaza nnyo, era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. 01GEN017.007 And I will establish my covenant between me and thee and thy seed after thee in their generations for an everlasting covenant, to be a God unto thee, and to thy seed after thee. %%% Era ndinyweza endagaano yange nze naawe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna okuba endagaano eteridiba, okuba Katonda eri ggwe n'eri ezzadde lyo eririddawo. 01GEN017.008 And I will give unto thee, and to thy seed after thee, the land wherein thou art a stranger, all the land of Canaan, for an everlasting possession; and I will be their God. %%% Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo eririddawo ensi gye watambulirangamu, ensi yonna eya Kanani, okugirya emirembe gyonna; era nze, naabeeranga Katonda waabwe. 01GEN017.009 And God said unto Abraham, Thou shalt keep my covenant therefore, thou, and thy seed after thee in their generations. %%% Katonda n'agamba Ibulayimu nti Naawe, gw'olikwata endagaano yange, ggwe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna. 01GEN017.010 This is my covenant, which ye shall keep, between me and you and thy seed after thee; Every man child among you shall be circumcised. %%% Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, eri nze nammwe n'ezzadde lyo eririddawo; buli musajja mummwe anaakomolwanga. 01GEN017.011 And ye shall circumcise the flesh of your foreskin; and it shall be a token of the covenant betwixt me and you. %%% Era munaakomolwanga omubiri gw'ekikuta kyammwe; era kunaabanga kabonero ak'endagaano eri nze nammwe. 01GEN017.012 And he that is eight days old shall be circumcised among you, every man child in your generations, he that is born in the house, or bought with money of any stranger, which is not of thy seed. %%% Anaamalanga ennaku omunaana anaakomolwanga mu mmwe, buli musajja mu mirembe gyammwe gyonna, anaazaalirwanga mu nnyumba, era n'oyomunnaggwanga yenna gw'anaabaguzanga n'ebintu, atali wa ku zzadde lyammwe. 01GEN017.013 He that is born in thy house, and he that is bought with thy money, must needs be circumcised: and my covenant shall be in your flesh for an everlasting covenant. %%% Anaazaalirwanga mu nnyumba yo, n'oyo anaagulibwanga n'ebintu byo, kibagwanira okumukomolanga: n'endagaano yange eneebanga mu mubiri gwammwe okuba endagaano eteridiba. 01GEN017.014 And the uncircumcised man child whose flesh of his foreskin is not circumcised, that soul shall be cut off from his people; he hath broken my covenant. %%% N'omusajja atali mukomole atakomolwanga mu mubiri gw'ekikuta kye, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be; ng'amenye endagaano yange. 01GEN017.015 And God said unto Abraham, As for Sarai thy wife, thou shalt not call her name Sarai, but Sarah shall her name be. %%% Katonda n'agamba Ibulayimu nti Salaayi mukazi wo, tokyamuyita erinnya lye Salaayi, naye Saala lye linaabanga erinnya lye. 01GEN017.016 And I will bless her, and give thee a son also of her: yea, I will bless her, and she shall be a mother of nations; kings of people shall be of her. %%% Nange ndimuwa omukisa, era nate ndikuwa omwana mu ye: weewaawo, ndimuwa omukisa, naye aliba nnyina w'amawanga; bakabaka b'abantu baliva mu ye. 01GEN017.017 Then Abraham fell upon his face, and laughed, and said in his heart, Shall a child be born unto him that is an hundred years old? and shall Sarah, that is ninety years old, bear? %%% Ibulayimu n'alyoka avuunama amaaso ge, n'aseka, n'ayogera mu mutima gwe nti Omwana alizaalirwa oyo eyaakamaze emyaka ekikumi? era ne Saala, eyaakamaze emyaka ekyenda, alizaala? 01GEN017.018 And Abraham said unto God, O that Ishmael might live before thee! %%% Ibulayimu n'agamba Katonda nti Singa Isimaeri anaabanga mulamu mu maaso go! 01GEN017.019 And God said, Sarah thy wife shall bear thee a son indeed; and thou shalt call his name Isaac: and I will establish my covenant with him for an everlasting covenant, and with his seed after him. %%% Katonda n'ayogera nti Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana; naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka: nange naanywezanga endagaano yange naye okuba endagaano eteridiba eri ezzadde lye eririddawo. 01GEN017.020 And as for Ishmael, I have heard thee: Behold, I have blessed him, and will make him fruitful, and will multiply him exceedingly; twelve princes shall he beget, and I will make him a great nation. %%% N'ebya Isimaeri, nkuwulidde: laba, mmuwadde omukisa, era ndimwaza, era ndimwongera nnyo; alizaala abakungu kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eddene. 01GEN017.021 But my covenant will I establish with Isaac, which Sarah shall bear unto thee at this set time in the next year. %%% Naye endagaano yange naaginywezanga eri Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu biro ebyo ebyateekebwawo mu mwaka ogugenda okujja. 01GEN017.022 And he left off talking with him, and God went up from Abraham. %%% N'aleka okwogera naye, Katonda n’alinnya n'ava eri Ibulayimu. 01GEN017.023 And Abraham took Ishmael his son, and all that were born in his house, and all that were bought with his money, every male among the men of Abraham's house; and circumcised the flesh of their foreskin in the selfsame day, as God had said unto him. %%% Ibulayimu n'atwala Isimaeri omwana we, ne bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye, ne bonna abaagulibwa n'ebintu bye, buli musajja mu bantu ab'omu nnyumba ya Ibulayimu, n'abakomolera ku lunaku olwo omubiri gw'ekikuta kyabwe, nga Katonda bwe yamugamba. 01GEN017.024 And Abraham was ninety years old and nine, when he was circumcised in the flesh of his foreskin. %%% Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye. 01GEN017.025 And Ishmael his son was thirteen years old, when he was circumcised in the flesh of his foreskin. %%% Ne Isimaeri omwana we yali yaakamaze emyaka kkumi n'esatu, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye. 01GEN017.026 In the selfsame day was Abraham circumcised, and Ishmael his son. %%% Ku lunaku lumu Ibulayimu n'akomolebwa ne Isimaeri omwana we. 01GEN017.027 And all the men of his house, born in the house, and bought with money of the stranger, were circumcised with him. %%% N'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, abo abaazaalirwa mu nnyumba, n'abo munnaggwanga yenna be yamuguza n'ebintu, ne bakomolwa wamu naye. 01GEN018.001 And the LORD appeared unto him in the plains of Mamre: and he sat in the tent door in the heat of the day; %%% Mukama n'amulabikira awali emivule gya Mamule, bwe yali ng'atudde mu mulyango mu ttuntu; 01GEN018.002 And he lift up his eyes and looked, and, lo, three men stood by him: and when he saw them, he ran to meet them from the tent door, and bowed himself toward the ground, %%% n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge: awo bwe yabalaba, n'ava mu mulyango gw'eweema n'adduka mbiro okubasisinkana, n'avuunama, 01GEN018.003 And said, My LORD, if now I have found favour in thy sight, pass not away, I pray thee, from thy servant: %%% n'ayogera nti Mukama wange, oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, tova wali muddu wo, nkwegayiridde: 01GEN018.004 Let a little water, I pray you, be fetched, and wash your feet, and rest yourselves under the tree: %%% kale nno baleete otuzzi, munaabe ebigere, muwummulire wansi w'omuti: 01GEN018.005 And I will fetch a morsel of bread, and comfort ye your hearts; after that ye shall pass on: for therefore are ye come to your servant. And they said, So do, as thou hast said. %%% nange naaleeta akamere, musanyuke emitima gyammwe; ne mulyoka mugenda: kubanga mutuuse eri omuddu wammwe. Ne boogera nti Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde. 01GEN018.006 And Abraham hastened into the tent unto Sarah, and said, Make ready quickly three measures of fine meal, knead it, and make cakes upon the hearth. %%% Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta, obugoye, ofumbe emmere. 01GEN018.007 And Abraham ran unto the herd, and fetcht a calf tender and good, and gave it unto a young man; and he hasted to dress it. %%% Ibulayimu n'adduka mbiro eri ekisibo, n'akima ennyana eŋŋonvu ennungi, n'agiwa omuddu; n'ayanguwa okugifumba. 01GEN018.008 And he took butter, and milk, and the calf which he had dressed, and set it before them; and he stood by them under the tree, and they did eat. %%% N'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya. 01GEN018.009 And they said unto him, Where is Sarah thy wife? And he said, Behold, in the tent. %%% Ne bamugamba nti Ali ludda wa Saala mukazi wo? N'ayogera nti Laba, ali mu weema. 01GEN018.010 And he said, I will certainly return unto thee according to the time of life; and, lo, Sarah thy wife shall have a son. And Sarah heard it in the tent door, which was behind him. %%% N'ayogera nti Sirirema kukomawo w'oli ekiseera bwe kiridda; era, laba, Saala mukazi wo alizaala omwana ow'obulenzi. Saala n'awulira mu mulyango gw'eweema, eyali ennyuma we. 01GEN018.011 Now Abraham and Sarah were old and well stricken in age; and it ceased to be with Sarah after the manner of women. %%% Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye, era nga bayitiridde obukadde; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eri. 01GEN018.012 Therefore Sarah laughed within herself, saying, After I am waxed old shall I have pleasure, my lord being old also? %%% Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti Nga mmaze okukaddiwa ndisanyuka, era ne mukama wange ng'akaddiye? 01GEN018.013 And the LORD said unto Abraham, Wherefore did Sarah laugh, saying, Shall I of a surety bear a child, which am old? %%% Mukama n'agamba Ibulayimu nti Kiki ekimusesezza Saala, ng'ayogera nti Mazima ndizaala omwana nga nkaddiye? 01GEN018.014 Is any thing too hard for the LORD? At the time appointed I will return unto thee, according to the time of life, and Sarah shall have a son. %%% Waliwo ekirema Mukama? Mubiro ebyateekebwawo ndikomawo w'oli, ekiseera bwe kiridda, ne Saala alizaala omwana ow'obulenzi. 01GEN018.015 Then Sarah denied, saying, I laughed not; for she was afraid. And he said, Nay; but thou didst laugh. %%% Saala n'alyoka yeegaana, ng'ayogera nti Sisese: kubanga yatya: N'ayogera nti Nedda; naye okuseka osese. 01GEN018.016 And the men rose up from thence, and looked toward Sodom: and Abraham went with them to bring them on the way. %%% Abasajja ne bagolokoka okuva eyo, ne batunuulira e Sodoma: Ibulayimu n'agenda nabo okubawerekerako. 01GEN018.017 And the LORD said, Shall I hide from Abraham that thing which I do; %%% Mukama n'ayogera nti Ibulayimu naamukisa kye nkola 01GEN018.018 Seeing that Abraham shall surely become a great and mighty nation, and all the nations of the earth shall be blessed in him? %%% kubanga Ibulayimu talirema kufuuka ggwanga ddene ery'amaanyi, era amawanga gonna ag'omu nsi galiweerwa omukisa mu ye. 01GEN018.019 For I know him, that he will command his children and his household after him, and they shall keep the way of the LORD, to do justice and judgment; that the LORD may bring upon Abraham that which he hath spoken of him. %%% Kubanga kyennava mmumanya, alyoke abalagire abaana be n'ennyumba ye eriddawo, okukwatanga ekkubo lya Mukama, okukolanga eby'obutuukirivu n'eby'ensonga; Mukama alyoke aleete ku Ibulayimu bye yamwogerako. 01GEN018.020 And the LORD said, Because the cry of Sodom and Gomorrah is great, and because their sin is very grievous; %%% Mukama n'ayogera nti Kubanga okukaaba okw'e Sodoma ne Ggomola kunene, era kubanga okwonoona kwabwe kwa kitalo: 01GEN018.021 I will go down now, and see whether they have done altogether according to the cry of it, which is come unto me; and if not, I will know. %%% nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng'okukaaba kwayo bwe kuli, okwatuuka eri nze; era obanga tekyali bwe kityo, naamanya. 01GEN018.022 And the men turned their faces from thence, and went toward Sodom: but Abraham stood yet before the LORD. %%% Abasajja ne bava eyo, ne bagenda e Sodoma: naye Ibulayimu ng'akyayimiridde mu maaso ga Mukama. 01GEN018.023 And Abraham drew near, and said, Wilt thou also destroy the righteous with the wicked? %%% Ibulayimu n'asembera, n'ayogera nti Olizikiriza abatuukitivu awamu n'ababi? 01GEN018.024 Peradventure there be fifty righteous within the city: wilt thou also destroy and not spare the place for the fifty righteous that are therein? %%% Mpozzi mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano: olizikiriza ekifo n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu ataano abakirimu? 01GEN018.025 That be far from thee to do after this manner, to slay the righteous with the wicked: and that the righteous should be as the wicked, that be far from thee: Shall not the Judge of all the earth do right? %%% Kitalo okole bw'otyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi, n'okwenkana abatuukirivu ne benkana n'ababi; kitalo ekyo: Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu? 01GEN018.026 And the LORD said, If I find in Sodom fifty righteous within the city, then I will spare all the place for their sakes. %%% Mukama n'ayogera nti Bwe nnaalaba mu Sodoma abatuukirivu ataano munda mu kibuga, ne ndyoka nsonyiwa ekifo kyonna ku bwabwe. 01GEN018.027 And Abraham answered and said, Behold now, I have taken upon me to speak unto the LORD, which am but dust and ashes: %%% Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama newakubadde nga ndi nfuufu bu fuufu n'evvu: 01GEN018.028 Peradventure there shall lack five of the fifty righteous: wilt thou destroy all the city for lack of five? And he said, If I find there forty and five, I will not destroy it.%%% mpozzi ku batuukirivu ataano kunaabulako abataano: olizikiriza ekibuga kyonna kubanga abataano babulako? N'ayogera nti Sirikizikiriza bwe nnaalabayo ana mu abataano. 01GEN018.029 And he spake unto him yet again, and said, Peradventure there shall be forty found there. And he said, I will not do it for forty's sake. %%% N'ayogera naye nate era nti Mpozzi munaalabikamu ana. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo ku bw'ana. 01GEN018.030 And he said unto him, Oh let not the LORD be angry, and I will speak: Peradventure there shall thirty be found there. And he said, I will not do it, if I find thirty there. %%% N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange kanjogere: mpozzi munaalabikamu asatu. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo, bwe nnaalabayo asatu. 01GEN018.031 And he said, Behold now, I have taken upon me to speak unto the LORD: Peradventure there shall be twenty found there. And he said, I will not destroy it for twenty's sake. %%% N'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama: mpozzi munaalabikamu abiri. N'ayogera nti Sirikizikiriza, ku bw'abiri abo. 01GEN018.032 And he said, Oh let not the LORD be angry, and I will speak yet but this once: Peradventure ten shall be found there. And he said, I will not destroy it for ten's sake. %%% N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange ka njogere nate omulundi guno ogumu gwokka : mpozzi munaalabikamu ekkumi. N'ayogera nti Sirikizikiriza ku bw'ekkumi abo. 01GEN018.033 And the LORD went his way, as soon as he had left communing with Abraham: and Abraham returned unto his place. %%% Mukama ne yeegendera, bwe yamala okwogera ne Ibulayimu: Ibulayimu n'addayo mu kifo kye. 01GEN019.001 And there came two angels to Sodom at even; and Lot sat in the gate of Sodom: and Lot seeing them rose up to meet them; and he bowed himself with his face toward the ground;%%% Ne Bamalayika babiri ne batuuka e Sodomu akawungeezi; ne Lutti yali atudde mu mulyango ogw'e Sodoma: Lutti n'abalaba, n'agolokoka okubasisinkana; n'avuunama amaaso ge 01GEN019.002 And he said, Behold now, my lords, turn in, I pray you, into your servant's house, and tarry all night, and wash your feet, and ye shall rise up early, and go on your ways. And they said, Nay; but we will abide in the street all night. %%% n'ayogera nti Laba nno, bakama bange, mwekooloobye, mbegayiridde, mu nnyumba ey'omuddu wammwe, musule okukeesa obudde, munaabe ebigere, mukeere enkya okugolokoka, mwegendere. Ne boogera nti Nedda; naye tunaasula mu luguudo okukeesa obudde. 01GEN019.003 And he pressed upon them greatly; and they turned in unto him, and entered into his house; and he made them a feast, and did bake unleavened bread, and they did eat. %%% N'abawaliriza nnyo; ne beekooloobya ewuwe, ne bayingira mu nyumba ye; n'abafumbira embaga, n'ayokya omugaati ogutazimbulukuswa, ne, balya. 01GEN019.004 But before they lay down, the men of the city, even the men of Sodom, compassed the house round, both old and young, all the people from every quarter: %%% Naye nga tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga, ab'e Sodoma, ne bazingiza ennyumba, abato era n'abakulu, abantu bonna nga bavudde mu bifo byonna: 01GEN019.005 And they called unto Lot, and said unto him, Where are the men which came in to thee this night? bring them out unto us, that we may know them. %%% ne bayita Lutti, ne bamugamba nti Abasajja bali ludda wa abayingidde ewuwo ekiro kino? obafulumye gye tuli, tubamanye. 01GEN019.006 And Lot went out at the door unto them, and shut the door after him, %%% Lutti n'afuluma gye bali mu mulyango, n'aggalawo oluggi ennyuma we. 01GEN019.007 And said, I pray you, brethren, do not so wickedly. %%% N'ayogera nti Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano. 01GEN019.008 Behold now, I have two daughters which have not known man; let me, I pray you, bring them out unto you, and do ye to them as is good in your eyes: only unto these men do nothing; for therefore came they under the shadow of my roof. %%% Laba nno, nnina abaana abawala babiri, abatamanyanga musajja; ka mbafulumye labo gye muli, mbeegayiridde, nammwe mubakole nga bwe kiri ekirungi mu maaso gammwe: naye abasajja abo temubakola kigambo; kubanga batuuse wansi w'ekisiikirize eky'akasolya kange. 01GEN019.009 And they said, Stand back. And they said again, This one fellow came in to sojourn, and he will needs be a judge: now will we deal worse with thee, than with them. And they pressed sore upon the man, even Lot, and came near to break the door. %%% Ne boogera nti Vaawo. Ne boogera nti Olusajja luno lwayingira okuba omugenyi, naye kirugwanira okuba omulamuzi: kaakano tunakukola ggwe bubi okusinga abo. Ne bamunyigiriza nnyo omusajja, ye Lutti, ne basembera okumenya oluggi. 01GEN019.010 But the men put forth their hand, and pulled Lot into the house to them, and shut to the door. %%% Naye abasajja ne bagolola emikono, ne bayingiza Lutti mu nnyumba mwe baali, ne baggalawo oluggi. 01GEN019.011 And they smote the men that were at the door of the house with blindness, both small and great: so that they wearied themselves to find the door. %%% Ne bazibya amaaso g'abasajja abaali ku luggi, abato era n'abakulu: n'okwekooya ne beekooya nga banoonya oluggi. 01GEN019.012 And the men said unto Lot, Hast thou here any besides? son in law, and thy sons, and thy daughters, and whatsoever thou hast in the city, bring them out of this place: %%% Abasajja ne bagamba Lutti nti Olina nate wano abalala? mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno: 01GEN019.013 For we will destroy this place, because the cry of them is waxen great before the face of the LORD; and the LORD hath sent us to destroy it. %%% kubanga tunaazikiriza ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama; era Mukama yatutumye okukizikiriza. 01GEN019.014 And Lot went out, and spake unto his sons in law, which married his daughters, and said, Up, get you out of this place; for the LORD will destroy this city. But he seemed as one that mocked unto his sons in law. %%% Lutti n'afuluma n'ayogera ne bakoddomi be, abaawasa abawala be, n'agamba nti Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yaliŋŋanga asaaga eri bakoddomi be. 01GEN019.015 And when the morning arose, then the angels hastened Lot, saying, Arise, take thy wife, and thy two daughters, which are here; lest thou be consumed in the iniquity of the city. %%% Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga. 01GEN019.016 And while he lingered, the men laid hold upon his hand, and upon the hand of his wife, and upon the hand of his two daughters; the LORD being merciful unto him: and they brought him forth, and set him without the city. %%% Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw'abaana be abawala bombi; Mukama ng'atusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w'ekibuga. 01GEN019.017 And it came to pass, when they had brought them forth abroad, that he said, Escape for thy life; look not behind thee, neither stay thou in all the plain; escape to the mountain, lest thou be consumed. %%% Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, n'ayogera nti Dduka oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira ku lusozi, oleme okuzikirizibwa. 01GEN019.018 And Lot said unto them, Oh, not so, my LORD: %%% Lutti n'abagamba nti Nedda, mukama wange, nkwegayiridde: 01GEN019.019 Behold now, thy servant hath found grace in thy sight, and thou hast magnified thy mercy, which thou hast shewed unto me in saving my life; and I cannot escape to the mountain, lest some evil take me, and I die: %%% laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era ogulumizizza okusaasira kwo, kw'ondaze ng'omponya nneme okufa; ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntuukako ne nfa: 01GEN019.020 Behold now, this city is near to flee unto, and it is a little one: Oh, let me escape thither, (is it not a little one?) and my soul shall live. %%% laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu, era kye kibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, (si kitono?), n'obulamu bwange buliwona. 01GEN019.021 And he said unto him, See, I have accepted thee concerning this thing also, that I will not overthrow this city, for the which thou hast spoken. %%% N'amugamba nti Era nkukkirizza ne mu kigambo ekyo, obutasuula kibuga ky'oyogeddeko. 01GEN019.022 Haste thee, escape thither; for I cannot do anything till thou be come thither. Therefore the name of the city was called Zoar. %%% Yanguwako, oddukire omwo; kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo. Erinnya ly'ekibuga kyeryava liyitibwa Zowaali. 01GEN019.023 The sun was risen upon the earth when Lot entered into Zoar. %%% Enjuba yali ng'emaze okuvaayo ku nsi Lutti bwe yatuuka mu Zowaali. 01GEN019.024 Then the LORD rained upon Sodom and upon Gomorrah brimstone and fire from the LORD out of heaven; %%% Mukama n'alyoka atonnyesa ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n'ekibiriiti nga biva mu ggulu; 01GEN019.025 And he overthrew those cities, and all the plain, and all the inhabitants of the cities, and that which grew upon the ground. %%% n'asuula ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, n'abo bonna abaatuulanga mu bibuga, n'ebyo ebyamera ku ttaka. 01GEN019.026 But his wife looked back from behind him, and she became a pillar of salt. %%% Naye mukazi we n'atunula ennyuma we ng'amuvaako ennyuma, n'afuuka empagi ey'omunnyo. 01GEN019.027 And Abraham gat up early in the morning to the place where he stood before the LORD: %%% Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya n'agenda mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga, Mukama: 01GEN019.028 And he looked toward Sodom and Gomorrah, and toward all the land of the plain, and beheld, and, lo, the smoke of the country went up as the smoke of a furnace. %%% n'atunuulira e Sodoma n'e Ggomola, n'eri ensi yonna ey'olusenyi, n'alengera, era, laba, omukka ogw'ensi ne gunyooka ng'omukka ogw'ekikoomi. 01GEN019.029 And it came to pass, when God destroyed the cities of the plain, that God remembered Abraham, and sent Lot out of the midst of the overthrow, when he overthrew the cities in the which Lot dwelt. %%% Awo, Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Katonda n'ajjukira Ibulayimu n'asindika Lutti ave wakati mu bibuga ebyasuulibwa, bwe yasuula ebibuga Lutti mwe yali atuula. 01GEN019.030 And Lot went up out of Zoar, and dwelt in the mountain, and his two daughters with him; for he feared to dwell in Zoar: and he dwelt in a cave, he and his two daughters. %%% Lutti n'alinnya n'ava mu Zowaali, n'atuula ku lusozi, n'abaana be abawala bombi naye; kubanga n'atya okutuula mu Zowaali: n'atuula mu mpuku, n'abaana be abawala bombi. 01GEN019.031 And the firstborn said unto the younger, Our father is old, and there is not a man in the earth to come in unto us after the manner of all the earth: %%% N'omubereberye n'agamba omuto nti Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi aliyingira gye tuli ng'empisa y'ensi zonna bw'eri: 01GEN019.032 Come, let us make our father drink wine, and we will lie with him, that we may preserve seed of our father. %%% kale, tunywese kitaffe omwenge, naffe tunaasula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe. 01GEN019.033 And they made their father drink wine that night: and the firstborn went in, and lay with her father; and he perceived not when she lay down, nor when she arose. %%% Ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'asula ne kitaawe; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka. 01GEN019.034 And it came to pass on the morrow, that the firstborn said unto the younger, Behold, I lay yesternight with my father: let us make him drink wine this night also; and go thou in, and lie with him, that we may preserve seed of our father. %%% Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti Laba, ekiro nasuze ne kitange: era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe n'oyingira, n'osula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe. 01GEN019.035 And they made their father drink wine that night also: and the younger arose, and lay with him; and he perceived not when she lay down, nor when she arose. %%% Era ne banywesa kitaabwe omwenge n'ekiro ekyo: omuto n'agolokoka, n'asula naye; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka. 01GEN019.036 Thus were both the daughters of Lot with child by their father. %%% Bwe batyo abaana ba Lutti bombi abawala ne baba embuto za kitaabwe. 01GEN019.037 And the first born bare a son, and called his name Moab: the same is the father of the Moabites unto this day. %%% Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu: oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano. 01GEN019.038 And the younger, she also bare a son, and called his name Benammi: the same is the father of the children of Ammon unto this day. %%% Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami: oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano. 01GEN020.001 And Abraham journeyed from thence toward the south country, and dwelled between Kadesh and Shur, and sojourned in Gerar. %%% Ibulayimu n'ava eyo n'atambula okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n'abeera mu Gerali. 01GEN020.002 And Abraham said of Sarah his wife, She is my sister: and Abimelech king of Gerar sent, and took Sarah. %%% Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti Ye mwanayinaze: ne Abimereki kabaka w'e Gerali n'atuma, n'atwala Saala. 01GEN020.003 But God came to Abimelech in a dream by night, and said to him, Behold, thou art but a dead man, for the woman which thou hast taken; for she is a man's wife. %%% Naye Katonda n'ajjira Abimereki mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba. 01GEN020.004 But Abimelech had not come near her: and he said, LORD, wilt thou slay also a righteous nation? %%% Era Abimereki yali nga tannamusemberera: n'ayogera nti Mukama, olitta eggwanga newakubadde nga ttuukirivu? 01GEN020.005 Said he not unto me, She is my sister? and she, even she herself said, He is my brother: in the integrity of my heart and innocency of my hands have I done this. %%% Teyaŋŋamba ye yennyini nti Ye mwannyinaze? naye omukazi, omukazi yennyini n'ayogera nti Ye mwannyinaze: nga nnina omutima omutuukirivu n'engalo ezitaliiko kabi bwe nnakola ekyo. 01GEN020.006 And God said unto him in a dream, Yea, I know that thou didst this in the integrity of thy heart; for I also withheld thee from sinning against me: therefore suffered I thee not to touch her. %%% Katonda n'amugamba mu kirooto nti Weewaawo, mmanyi nga wakola ekyo ng'olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako. 01GEN020.007 Now therefore restore the man his wife; for he is a prophet, and he shall pray for thee, and thou shalt live: and if thou restore her not, know thou that thou shalt surely die, thou, and all that are thine. %%% Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga ye nnabbi, naye alikusabira, naawe oliba mulamu: era bw'otoomuzzeeyo, tegeera nga tolirema kufa, ggwe, n'ababo bonna. 01GEN020.008 Therefore Abimelech rose early in the morning, and called all his servants, and told all these things in their ears: and the men were sore afraid. %%% Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abuulira ebyo byonna mu matu gaabwe: abasajja tre batya nayo. 01GEN020.009 Then Abimelech called Abraham, and said unto him, What hast thou done unto us? and what have I offended thee, that thou hast brought on me and on my kingdom a great sin? thou hast done deeds unto me that ought not to be done. %%% Abimereki n’alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti Onkoze ki? nange nnakwonoona ntya, ggwe okundeetera nze n'obwakabaka bwange okwonoona okunene? Onkoze ebikolwa ebitagwana kukola. 01GEN020.010 And Abimelech said unto Abraham, What sawest thou, that thou hast done this thing? %%% Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Walaba kiki, ekyakukoza ekyo? 01GEN020.011 And Abraham said, Because I thought, Surely the fear of God is not in this place; and they will slay me for my wife's sake. %%% Ibulayimu n'ayogera nti Kubanga nalowooza nti Mazima okutya Katonda tekuli mu kifo kino; nange balinzita olwa mukazi wange. 01GEN020.012 And yet indeed she is my sister; she is the daughter of my father, but not the daughter of my mother; and she became my wife. %%% Era naye mazima ye mwanayinaze, mwana wa kitange, naye si mwana wa mmange; n'afuuka mukazi wange: 01GEN020.013 And it came to pass, when God caused me to wander from my father's house, that I said unto her, This is thy kindness which thou shalt shew unto me; at every place whither we shall come, say of me, He is my brother. %%% kale, Katonda bwe yantambuzatambuza okuva mu nnyumba ya kitange, ne ndyoka mmugamba nti Kino kye kisa kyo ky'ononjolesanga; mu buli kifo mwe tunaatuukanga, oyogeranga ku nze nti Ye mwannyinaze. 01GEN020.014 And Abimelech took sheep, and oxen, and menservants, and womenservants, and gave them unto Abraham, and restored him Sarah his wife. %%% Ne Abimereki n'atwala endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'abiwa Ibulayimu, n'amuddiza Saala mukazi we. 01GEN020.015 And Abimelech said, Behold, my land is before thee: dwell where it pleaseth thee. %%% Abimereki n'ayogera nti Ensi yange eri mu maaso go: tuula gy'onooyagala. 01GEN020.016 And unto Sarah he said, Behold, I have given thy brother a thousand pieces of silver: behold, he is to thee a covering of the eyes, unto all that are with thee, and with all other: thus she was reproved. %%% N'agamba Saala nti Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza: laba, ky'eky'okubikka ku maaso gy'oli eri abo bonna abali naawe; ne mu bigambo byonna ogattiddwa. 01GEN020.017 So Abraham prayed unto God: and God healed Abimelech, and his wife, and his maidservants; and they bare children. %%% Ibulayimu n'asaba Katonda: Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'a bazaana be; ne bazaala abaana. 01GEN020.018 For the LORD had fast closed up all the wombs of the house of Abimelech, because of Sarah Abraham's wife. %%% Kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, alwa Saala mukazi wa Ibulayimu. 01GEN021.001 And the LORD visited Sarah as he had said, and the LORD did unto Sarah as he had spoken. %%% Mukama n'ajjira Saala nga bwe yayogera, era Mukama n’akola Saala nga bwe yagamba. 01GEN021.002 For Sarah conceived, and bare Abraham a son in his old age, at the set time of which God had spoken to him. %%% Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako. 01GEN021.003 And Abraham called the name of his son that was born unto him, whom Sarah bare to him, Isaac. %%% lbulayimu n'atuuma omwana we eyamuzaalirwa, Saala gwe yamuzaalira, erinnya lye Isaaka. 01GEN021.004 And Abraham circumcised his son Isaac being eight days old, as God had commanded him. %%% Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka nga yaakamaze ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira. 01GEN021.005 And Abraham was an hundred years old, when his son Isaac was born unto him. %%% Era Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kikumi, omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa. 01GEN021.006 And Sarah said, God hath made me to laugh, so that all that hear will laugh with me. %%% Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi. 01GEN021.007 And she said, Who would have said unto Abraham, that Sarah should have given children suck? for I have born him a son in his old age. %%% N'ayogera nti Aluwa oyo eyandigambye Ibulayimu nga Saala aliyonsa abaana be? kubanga mmuzaalidde omwana ow'obulenzi ng'akaddiye. 01GEN021.008 And the child grew, and was weaned: and Abraham made a great feast the same day that Isaac was weaned. %%% Omwana n'akula, n'ava ku mabeere: Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere. 01GEN021.009 And Sarah saw the son of Hagar the Egyptian, which she had born unto Abraham, mocking. %%% Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'aduula. 01GEN021.010 Wherefore she said unto Abraham, Cast out this bondwoman and her son: for the son of this bondwoman shall not be heir with my son, even with Isaac. %%% Kyeyava agamba Ibulayimu nti Goba omuzaana ono n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, ye Isaaka. 01GEN021.011 And the thing was very grievous in Abraham's sight because of his son. %%% N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo mu maaso ga Ibulayimu olw'omwana we. 01GEN021.012 And God said unto Abraham, Let it not be grievous in thy sight because of the lad, and because of thy bondwoman; in all that Sarah hath said unto thee, hearken unto her voice; for in Isaac shall thy seed be called. %%% Katonda n'agamba Ibulayimu nti Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo; mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga. 01GEN021.013 And also of the son of the bondwoman will I make a nation, because he is thy seed. %%% Era ne mu mwana w'omuzaana ndimuviisaamu eggwanga, kubanga ye lye zzadde lyo. 01GEN021.014 And Abraham rose up early in the morning, and took bread, and a bottle of water, and gave it unto Hagar, putting it on her shoulder, and the child, and sent her away: and she departed, and wandered in the wilderness of Beersheba. %%% Ibulayimu n'agolokoka eakya mu makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, ng'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amusindika: n'agenda, n'atambuliratambulira mu ddungu ery'e Beeruseba; 01GEN021.015 And the water was spent in the bottle, and she cast the child under one of the shrubs. %%% N'amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n’asazika omwana wansi w'ekisaka ekimu. 01GEN021.016 And she went, and sat her down over against him a good way off, as it were a bow shot: for she said, Let me not see the death of the child. And she sat over against him, and lift up her voice, and wept. %%% N'agenda, n'atuula wansi ng'amutunuulira walako, ug'ebbanga akasaale we kagwa: kubanga yayogera nti Nneme okulaba omwana ng'afa. N'atuula ng'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. era n'emmunyeenye. 01GEN021.017 And God heard the voice of the lad; and the angel of God called to Hagar out of heaven, and said unto her, What aileth thee, Hagar? fear not; for God hath heard the voice of the lad where he is. %%% Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; ne malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n’amugamba nti Obadde otya, Agali? totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali. 01GEN021.018 Arise, lift up the lad, and hold him in thine hand; for I will make him a great nation. %%% Golokoka, oyimuse omulenzi, omukwate mu ngalo zo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene. 01GEN021.019 And God opened her eyes, and she saw a well of water; and she went, and filled the bottle with water, and gave the lad drink. %%% Katonda n'azibula amaaso ge, n'alaba oluzzi lw'amazzi n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi. 01GEN021.020 And God was with the lad; and he grew, and dwelt in the wilderness, and became an archer. %%% Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale. 01GEN021.021 And he dwelt in the wilderness of Paran: and his mother took him a wife out of the land of Egypt. %%% N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani: ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri. 01GEN021.022 And it came to pass at that time, that Abimelech and Phichol the chief captain of his host spake unto Abraham, saying, God is with thee in all that thou doest: %%% Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola: 01GEN021.023 Now therefore swear unto me here by God that thou wilt not deal falsely with me, nor with my son, nor with my son's son: but according to the kindness that I have done unto thee, thou shalt do unto me, and to the land wherein thou hast sojourned. %%% kale nno, ndayirira wano Katonda nga tonkuusekuusenga nze; newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange: naye ng'ekisa bwe kiri kye nkukoze, naawe ononkolanga bw'otyo nze, n'ensi gye watuulamu. 01GEN021.024 And Abraham said, I will swear. %%% Ibulayimu n'ayogera nti Nnaalayira. 01GEN021.025 And Abraham reproved Abimelech because of a well of water, which Abimelech's servants had violently taken away. %%% Ibulayimu n'anenya Abimereki olw'oluzzi lw'amazzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi. 01GEN021.026 And Abimelech said, I wot not who hath done this thing: neither didst thou tell me, neither yet heard I of it, but to day. %%% Abimereki n'ayogera nti Simumanyi bw'ali eyakola bw'atyo; so tombuulirangako, so siwulirangako era, wabula leero. 01GEN021.027 And Abraham took sheep and oxen, and gave them unto Abimelech; and both of them made a covenant. %%% Ibulayimu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi. 01GEN021.028 And Abraham set seven ewe lambs of the flock by themselves. %%% Ibulayimu n'ateeka endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo wamu zokka. 01GEN021.029 And Abimelech said unto Abraham, What mean these seven ewe lambs which thou hast set by themselves? %%% Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Endiga ezo enduusi omusanw z'otadde awamu zokka amakulu gaazo ki? 01GEN021.030 And he said, For these seven ewe lambs shalt thou take of my hand, that they may be a witness unto me, that I have digged this well. %%% N'ayogera nti Endiga ezo eaduusi omusanvu onooziweebwa mu mukono gwange, ekyo kibeere omujulirwa gye ndi, nga nze nnasima oluzzi olwo. 01GEN021.031 Wherefore he called that place Beersheba; because there they sware both of them. %%% Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi. 01GEN021.032 Thus they made a covenant at Beersheba: then Abimelech rose up, and Phichol the chief captain of his host, and they returned into the land of the Philistines. %%% Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba: Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi eya Abafirisuuti. 01GEN021.033 And Abraham planted a grove in Beersheba, and called there on the name of the LORD, the everlasting God. %%% (Ibulayimu) n'asimba omumyulira mu Beeruseba, n'akoowoolera eyo erinaya lya Mukama, Katonda ataggwaawo. 01GEN021.034 And Abraham sojourned in the Philistines' land many days. %%% Ibulayimu n'amala ennaku nnyiagi mu nsi eya Abafisuuti. 01GEN022.001 And it came to pass after these things, that God did tempt Abraham, and said unto him, Abraham: and he said, Behold, here I am. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'akema Ibulayimu, n'amugainba nti Ibulayimu; n'ayogera nti Nze nzuuno. 01GEN022.002 And he said, Take now thy son, thine only son Isaac, whom thou lovest, and get thee into the land of Moriah; and offer him there for a burnt offering upon one of the mountains which I will tell thee of. %%% N'ayogera nti Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako. 01GEN022.003 And Abraham rose up early in the morning, and saddled his ass, and took two of his young men with him, and Isaac his son, and clave the wood for the burnt offering, and rose up, and went unto the place of which God had told him. %%% Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako. 01GEN022.004 Then on the third day Abraham lifted up his eyes, and saw the place afar off. %%% Ku lunaku olw'okusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo. 01GEN022.005 And Abraham said unto his young men, Abide ye here with the ass; and I and the lad will go yonder and worship, and come again to you. %%% Ibulayimu n'agamba abawbuka be nti Mubeere mmwe wano n'endogoyi; nange n'omulenzi tunaagenda wali; ne tusinza, ne tudda gye muli. 01GEN022.006 And Abraham took the wood of the burnt offering, and laid it upon Isaac his son; and he took the fire in his hand, and a knife; and they went both of them together. %%% Ibulayimu n'atwala enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'azitikka Isaaka omwana we; n'atwala omuliro n'akambe mu ngalo ze; ne bagenda bombi wamu. 01GEN022.007 And Isaac spake unto Abraham his father, and said, My father: and he said, Here am I, my son. And he said, Behold the fire and the wood: but where is the lamb for a burnt offering? %%% Isaaka n'agamba Ibulayimu kitaawe nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; mwana wange. N'ayogera nti Laba, omuliro n'enku (biibino): naye guluwa omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa? 01GEN022.008 And Abraham said, My son, God will provide himself a lamb for a burnt offering: so they went both of them together. %%% Ibulayimu n'ayogera nti Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa, mwana wange: kale ne bagenda bombi. 01GEN022.009 And they came to the place which God had told him of; and Abraham built an altar there, and laid the wood in order, and bound Isaac his son, and laid him on the altar upon the wood. %%% Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimbira eyo ekyoto, n'atindikira enku, n'asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku Kyoto, ku nku. 01GEN022.010 And Abraham stretched forth his hand, and took the knife to slay his son. %%% Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'addira akambe okutta omwana we. 01GEN022.011 And the angel of the LORD called unto him out of heaven, and said, Abraham, Abraham: and he said, Here am I. %%% Ne malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Ibulayimu, Ibulayimu: n'ayogera nti Nze nzuuno. 01GEN022.012 And he said, Lay not thine hand upon the lad, neither do thou any thing unto him: for now I know that thou fearest God, seeing thou hast not withheld thy son, thine only son from me. %%% N'ayogera nti Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu. 01GEN022.013 And Abraham lifted up his eyes, and looked, and behold behind him a ram caught in a thicket by his horns: and Abraham went and took the ram, and offered him up for a burnt offering in the stead of his son. %%% Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, ennyuma we endiga ensajja, ng'ekwatiddwa mu kisaka n'amayembe gaayo: Ibulayimu n'agenda n'atwala endiga, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa mu kifo ky'omwana we. 01GEN022.014 And Abraham called the name of that place Jehovahjireh: as it is said to this day, In the mount of the LORD it shall be seen. %%% Ibulayimu n'atuuma ekifo kiri erinnya lyakyo Yakuwayire: nga bwe kyogerwa ne leero nti ku lusozi lwa Mukama kirirabwa. 01GEN022.015 And the angel of the LORD called unto Abraham out of heaven the second time, %%% Ne malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogw'okubiri ng'ayima mu ggulu, 01GEN022.016 And said, By myself have I sworn, saith the LORD, for because thou hast done this thing, and hast not withheld thy son, thine only son: %%% n'ayogera nti Nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo, omwana wo omu: 01GEN022.017 That in blessing I will bless thee, and in multiplying I will multiply thy seed as the stars of the heaven, and as the sand which is upon the sea shore; and thy seed shall possess the gate of his enemies;%%% okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango ogw'abalabe baabwe; 01GEN022.018 And in thy seed shall all the nations of the earth be blessed; because thou hast obeyed my voice. %%% era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange. 01GEN022.019 So Abraham returned unto his young men, and they rose up and went together to Beersheba; and Abraham dwelt at Beersheba. %%% Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne bagolokoka ne bagenda bonna wamu e Beeruseba; Ibulayimu n'atuulanga mu Beeruseba. 01GEN022.020 And it came to pass after these things, that it was told Abraham, saying, Behold, Milcah, she hath also born children unto thy brother Nahor; %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nga boogera nti Laba, era Mirika naye yazaalira abaana muganda wo Nakoli; 01GEN022.021 Huz his firstborn, and Buz his brother, and Kemuel the father of Aram, %%% Uzi, omubereberye we, ne Buzi, muganda we, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu; 01GEN022.022 And Chesed, and Hazo, and Pildash, and Jidlaph, and Bethuel. %%% ne Kesedi, ne Kaazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu, ne Bessweri. 01GEN022.023 And Bethuel begat Rebekah: these eight Milcah did bear to Nahor, Abraham's brother. %%% Bessweri n'azaala Lebbeeka: abo omunaana Mirika yabazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu. 01GEN022.024 And his concubine, whose name was Reumah, she bare also Tebah, and Gaham, and Thahash, and Maachah. %%% N'omuzaana we, erinnya lye Lewuma, era naye n'azaala Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka. 01GEN023.001 And Sarah was an hundred and seven and twenty years old: these were the years of the life of Sarah. %%% Saala n'awangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu: egyo gye myaka Saala gye yawangaala. 01GEN023.002 And Sarah died in Kirjatharba; the same is Hebron in the land of Canaan: and Abraham came to mourn for Sarah, and to weep for her. %%% Saala n'afiira mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), mu nsi ya Kanani: Ibulayimu n'ajja okukungubagira Saala, n'okumukaabira, amaziga. 01GEN023.003 And Abraham stood up from before his dead, and spake unto the sons of Heth, saying, %%% Ibulayimu n'agolokokai n'ava eri omulambo gwe, n'agamba abaana ba Keesi nti 01GEN023.004 I am a stranger and a sojourner with you: give me a possession of a buryingplace with you, that I may bury my dead out of my sight. %%% Nze ndi mu01GENyi era mutambuze gye muli: mumpe ekifo eky'okuziikangamu okuba obutaka mu nsi yammwe, nziike omulambo gwange obutagulabangako. 01GEN023.005 And the children of Heth answered Abraham, saying unto him, %%% N'abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu, nga bamu gamba nti 01GEN023.006 Hear us, my lord: thou art a mighty prince among us: in the choice of our sepulchres bury thy dead; none of us shall withhold from thee his sepulchre, but that thou mayest bury thy dead. %%% Otuwulire, mukama wange: ggwe oli mukungu mukulu mu ffe: ziika omulambo gwo mu ntaana yaffe gy'oneeroboza mu zonna; tewali mu ffe a01GENda okukumma entaana ye, obutaaiika omulambo gwo. 01GEN023.007 And Abraham stood up, and bowed himself to the people of the land, even to the children of Heth. %%% Ibulayimu n'agolokoka, n'awunamira abantu ab'omu nsi, be baana ba Keesi. 01GEN023.008 And he communed with them, saying, If it be your mind that I should bury my dead out of my sight; hear me, and intreat for me to Ephron the son of Zohar, %%% N'ayogera nabo, ng'agamba nti Bwe mwagala nze okuziika omulambo gwange obutagulabangako, mumpulire, munneegayiririre Efulooni omwana wa Zokali, 01GEN023.009 That he may give me the cave of Machpelah, which he hath, which is in the end of his field; for as much money as it is worth he shall give it me for a possession of a buryingplace amongst you. %%% ampe empuku eya Mnkupeera, gy'alina, ekomerera mu lusuku lwe; aginguze omuwendo gwayo omulamba wakati mu mmwe okuba obutaka okuba entaana. 01GEN023.010 And Ephron dwelt among the children of Heth: and Ephron the Hittite answered Abraham in the audience of the children of Heth, even of all that went in at the gate of his city, saying, %%% Efulooni yali atudde wakati mu baana ba Keesi; Efulooni Omukiiti n'addamu Ibulayimu abaana ba Keesi nga bamuwulira, be bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga, ng'ayogera nti 01GEN023.011 Nay, my lord, hear me: the field give I thee, and the cave that is therein, I give it thee; in the presence of the sons of my people give I it thee: bury thy dead. %%% Nedda, mukama wange, ompulire: olusuku ndukuwadde, n'empuku erulimu ngikuwadde; mu maaso g`abaana b'abantu bange ngikuwadde: ziika omulambo gwo. 01GEN023.012 And Abraham bowed down himself before the people of the land. %%% Ibulayimu n'avuunama mu maaso g'abantu ab'omu nsi. 01GEN023.013 And he spake unto Ephron in the audience of the people of the land, saying, But if thou wilt give it, I pray thee, hear me: I will give thee money for the field; take it of me, and I will bury my dead there. %%% N'agamba Efulooni abantu ab'oImu nsi nga bamuwulira, ng'ayogera Inti Naye bw'onooyagala, nkwegayiIrira, ompulire: nnaasasula omuwendo gw'olusuku; gukkirize nkuwe, nange naaziika omwo omulambo gwange. 01GEN023.014 And Ephron answered Abraham, saying unto him, %%% Efulooni n'addamu Ibulayimu, ng'amugamba nti 01GEN023.015 My lord, hearken unto me: the land is worth four hundred shekels of silver; what is that betwixt me and thee? bury therefore thy dead. %%% Mukama wange, ompulire: akasuku omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina kintu ki eri nze naawe? kale ziika omulambo gwo. 01GEN023.016 And Abraham hearkened unto Ephron; and Abraham weighed to Ephron the silver, which he had named in the audience of the sons of Heth, four hundred shekels of silver, current money with the merchant. %%% Ibulayimu n'awulira Efulooni; Ibulayimu n'agerera Efulooni effeeza gye yali agambye abaana ba Keesi nga bamuwulira, essekeri eza ffeeza bina, nga effeeza eya bulijjo ey'omuguzi bwe yali. 01GEN023.017 And the field of Ephron, which was in Machpelah, which was before Mamre, the field, and the cave which was therein, and all the trees that were in the field, that were in all the borders round about, were made sure %%% Awo olusuku lwa Efulooni, olwali mu Makupeera, etunuulira Mamule, olusuku n'empuku eyalimu, n'emiti gyonna egyali mu lusuku, egyali mu nsalo yaalwo yonna okwetooloola, 01GEN023.018 Unto Abraham for a possession in the presence of the children of Heth, before all that went in at the gate of his city. %%% byanywezebwa eri Ibulayimu okuba obutaka bwe mu maaso g'abaana ba Keesi, mu maaso ga bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga kye. 01GEN023.019 And after this, Abraham buried Sarah his wife in the cave of the field of Machpelah before Mamre: the same is Hebron in the land of Canaan. %%% Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule (ye Kebbulooni), mu nsi y'e Kanani. 01GEN023.020 And the field, and the cave that is therein, were made sure unto Abraham for a possession of a buryingplace by the sons of Heth. %%% N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe okuba ekifo eky'okuziikangamu. 01GEN024.001 And Abraham was old, and well stricken in age: and the LORD had blessed Abraham in all things. %%% Ibulayimu yali akaddiye, ng'ayitiridde obukadde: era Mukama yawanga Ibulayimu omukisa mu bigambo byonna. 01GEN024.002 And Abraham said unto his eldest servant of his house, that ruled over all that he had, Put, I pray thee, thy hand under my thigh: %%% Ibulayimu n'agamba omuddu we, omukulu w'ennyumba ye, eyafuganga byonna bye yalina, nti Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange; 01GEN024.003 And I will make thee swear by the LORD, the God of heaven, and the God of the earth, that thou shalt not take a wife unto my son of the daughters of the Canaanites, among whom I dwell: %%% nange naakulayiza Mukama, Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani, be ntuulamu: 01GEN024.004 But thou shalt go unto my country, and to my kindred, and take a wife unto my son Isaac. %%% naye oligenda mu nsi yange, era eri baganda bange, omuwasize omwana wange Isaaka omukazi. 01GEN024.005 And the servant said unto him, Peradventure the woman will not be willing to follow me unto this land: must I needs bring thy son again unto the land from whence thou camest? %%% Omuddu n'amugamba nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange okutuuka mu nsi eno: kirignwanira okuzza omwana wo mu asi gye wavaamu? 01GEN024.006 And Abraham said unto him, Beware thou that thou bring not my son thither again. %%% Ibulayimu n'amugamba nti Tozzangayo mwana wange n'akatono. 01GEN024.007 The LORD God of heaven, which took me from my father's house, and from the land of my kindred, and which spake unto me, and that sware unto me, saying, Unto thy seed will I give this land; he shall send his angel before thee, and thou shalt take a wife unto my son from thence. %%% Mukama, Katonda w'eggulu, eyanziya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno; oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo. 01GEN024.008 And if the woman will not be willing to follow thee, then thou shalt be clear from this my oath: only bring not my son thither again. %%% N'omukazi bw'aliba nga takkirizza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; kino kyokka, obutamuzzaayo mwana wange. 01GEN024.009 And the servant put his hand under the thigh of Abraham his master, and sware to him concerning that matter. %%% Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo. 01GEN024.010 And the servant took ten camels of the camels of his master, and departed; for all the goods of his master were in his hand: and he arose, and went to Mesopotamia, unto the city of Nahor. %%% Omuddu n'atwala eŋŋamira kkumi, ez'omu ŋŋamira za mukama we, ne yeegendera; ng'alina ebintu byonna ebirungi ebya mukama we mu ngalo ze: n'agolokoka, n'agenda mu Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli. 01GEN024.011 And he made his camels to kneel down without the city by a well of water at the time of the evening, even the time that women go out to draw water. %%% N'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga awali oluzzi lw'amazzi obudde nga buwungeera, obudde nga butuuse abakazi we baafulumi ranga okusena amazzi. 01GEN024.012 And he said, O LORD God of my master Abraham, I pray thee, send me good speed this day, and shew kindness unto my master Abraham. %%% N'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu. 01GEN024.013 Behold, I stand here by the well of water; and the daughters of the men of the city come out to draw water: %%% Laba, nnyimiridde ku nsulo z'amazzi; n'abaana abawala b'ab'omu kibuga bafuluma okusena amazzi: 01GEN024.014 And let it come to pass, that the damsel to whom I shall say, Let down thy pitcher, I pray thee, that I may drink; and she shall say, Drink, and I will give thy camels drink also: let the same be she that thou hast appointed for thy servant Isaac; and thereby shall I know that thou hast shewed kindness unto my master. %%% kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n'enhamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng'olaze ekisa mukama wange. 01GEN024.015 And it came to pass, before he had done speaking, that, behold, Rebekah came out, who was born to Bethuel, son of Milcah, the wife of Nahor, Abraham's brother, with her pitcher upon her shoulder. %%% Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika; mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye. 01GEN024.016 And the damsel was very fair to look upon, a virgin, neither had any man known her: and she went down to the well, and filled her pitcher, and came up. %%% N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka. 01GEN024.017 And the servant ran to meet her, and said, Let me, I pray thee, drink a little water of thy pitcher. %%% Omuddu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'ayogera nti Onnywese, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo. 01GEN024.018 And she said, Drink, my lord: and she hasted, and let down her pitcher upon her hand, and gave him drink. %%% N'ayogera nti Nywa, mukama wange: n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe, n’amunywesa. 01GEN024.019 And when she had done giving him drink, she said, I will draw water for thy camels also, until they have done drinking. %%% Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute. 01GEN024.020 And she hasted, and emptied her pitcher into the trough, and ran again unto the well to draw water, and drew for all his camels. %%% N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'addukana nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna. 01GEN024.021 And the man wondering at her held his peace, to wit whether the LORD had made his journey prosperous or not. %%% Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo Iwe omukisa oba nga tawadde. 01GEN024.022 And it came to pass, as the camels had done drinking, that the man took a golden earring of half a shekel weight, and two bracelets for her hands of ten shekels weight of gold; %%% Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi eza zaabu; 01GEN024.023 And said, Whose daughter art thou? tell me, I pray thee: is there room in thy father's house for us to lodge in? %%% n'ayogera nti Ggwe oli mwana w'ani? mbuulira, nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo? 01GEN024.024 And she said unto him, I am the daughter of Bethuel the son of Milcah, which she bare unto Nahor. %%% N'amugamba nti Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli. 01GEN024.025 She said moreover unto him, We have both straw and provender enough, and room to lodge in. %%% Era nate n'amugamba nti Tulina essubi era n'ebyokulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu 01GEN024.026 And the man bowed down his head, and worshipped the LORD. %%% Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama. 01GEN024.027 And he said, Blessed be the LORD God of my master Abraham, who hath not left destitute my master of his mercy and his truth: I being in the way, the LORD led me to the house of my master's brethren. %%% N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange: nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange. 01GEN024.028 And the damsel ran, and told them of her mother's house these things. %%% Omuwala n'addukana, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri. 01GEN024.029 And Rebekah had a brother, and his name was Laban: and Laban ran out unto the man, unto the well. %%% Era Lebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labbaani: Labbaani, n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi. 01GEN024.030 And it came to pass, when he saw the earring and bracelets upon his sister's hands, and when he heard the words of Rebekah his sister, saying, Thus spake the man unto me; that he came unto the man; and, behold, he stood by the camels at the well. %%% Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwaanyina, ng'ayogera nti Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye; n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo. 01GEN024.031 And he said, Come in, thou blessed of the LORD; wherefore standest thou without? for I have prepared the house, and room for the camels. %%% N'ayogera nti Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? kubanga nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira. 01GEN024.032 And the man came into the house: and he ungirded his camels, and gave straw and provender for the camels, and water to wash his feet, and the men's feet that were with him. %%% Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'awa essubi n'ebyokulya eby'ennamira, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye. 01GEN024.033 And there was set meat before him to eat: but he said, I will not eat, until I have told mine errand. And he said, Speak on. %%% Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa. N'ayogera nti Yogera. 01GEN024.034 And he said, I am Abraham's servant. %%% N'ayogera nti Nze ndi muddu wa Ibulayimu 01GEN024.035 And the LORD hath blessed my master greatly; and he is become great: and he hath given him flocks, and herds, and silver, and gold, and menservants, and maidservants, and camels, and asses. %%% Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi. 01GEN024.036 And Sarah my master's wife bare a son to my master when she was old: and unto him hath he given all that he hath. %%% Ne Saala mukazi wa mukama wange n’azaalira! mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye: era oyo n'amuwa. byonna by'alina. 01GEN024.037 And my master made me swear, saying, Thou shalt not take a wife to my son of the daughters of the Canaanites, in whose land I dwell: %%% Ne mukama wange n'andayiza, ag'ayogera nti Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe: 01GEN024.038 But thou shalt go unto my father's house, and to my kindred, and take a wife unto my son. %%% naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi. 01GEN024.039 And I said unto my master, Peradventure the woman will not follow me. %%% Ne ŋŋamba mukama wange nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange. 01GEN024.040 And he said unto me, The LORD, before whom I walk, will send his angel with thee, and prosper thy way; and thou shalt take a wife for my son of my kindred, and of my father's house: %%% N'aŋŋamba nti Mukama, gwe ntambulira, mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aIiwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange: 01GEN024.041 Then shalt thou be clear from this my oath, when thou comest to my kindred; and if they give not thee one, thou shalt be clear from my oath. %%% bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange. 01GEN024.042 And I came this day unto the well, and said, O LORD God of my master Abraham, if now thou do prosper my way which I go: %%% Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda: 01GEN024.043 Behold, I stand by the well of water; and it shall come to pass, that when the virgin cometh forth to draw water, and I say to her, Give me, I pray thee, a little water of thy pitcher to drink; %%% laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti Ompe, nkwegapiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe: 01GEN024.044 And she say to me, Both drink thou, and I will also draw for thy camels: let the same be the woman whom the LORD hath appointed out for my master's son. %%% naye anaŋŋnamba nti nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange. 01GEN024.045 And before I had done speaking in mine heart, behold, Rebekah came forth with her pitcher on her shoulder; and she went down unto the well, and drew water: and I said unto her, Let me drink, I pray thee. %%% Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n’asena: ne mmugamba nti Nnywe, nkwegayiridde. 01GEN024.046 And she made haste, and let down her pitcher from her shoulder, and said, Drink, and I will give thy camels drink also: so I drank, and she made the camels drink also. %%% N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo: ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira. 01GEN024.047 And I asked her, and said, Whose daughter art thou? And she said, The daughter of Bethuel, Nahor's son, whom Milcah bare unto him: and I put the earring upon her face, and the bracelets upon her hands. %%% Ne mmubuuza ne njogera nti Ggwe oli mwana w'ani? N'ayogera nti Mwana wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira: ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'emisagga ku mikono gye. 01GEN024.048 And I bowed down my head, and worshipped the LORD, and blessed the LORD God of my master Abraham, which had led me in the right way to take my master's brother's daughter unto his son. %%% Ne nkutama, ne nsinza Mukama, ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo lyeanyini okuwasiza omwana we omwana wa mwannyina mukama wange. 01GEN024.049 And now if ye will deal kindly and truly with my master, tell me: and if not, tell me; that I may turn to the right hand, or to the left. %%% Ne kaakaano bwe munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire; era bwe mutakkirize, mumbuulire; ndyoke nkyukire ku mukono ogwa ddyo, oba ku gwa kkono. 01GEN024.050 Then Laban and Bethuel answered and said, The thing proceedeth from the LORD: we cannot speak unto thee bad or good. %%% Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama: tetuyinza kukubuulira bibi newakubadde ebirungi. 01GEN024.051 Behold, Rebekah is before thee, take her, and go, and let her be thy master's son's wife, as the LORD hath spoken. %%% Laba, Lebbeeka ali mu maaso go, mutwale, ogende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama aga bw'ayogedde. 01GEN024.052 And it came to pass, that, when Abraham's servant heard their words, he worshipped the LORD, bowing himself to the earth. %%% Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawuiira ebigambo ebyo, n'avuunama eri Mukama, 01GEN024.053 And the servant brought forth jewels of silver, and jewels of gold, and raiment, and gave them to Rebekah: he gave also to her brother and to her mother precious things. %%% Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'amakula aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lenbeeka: era n'awa ne mwannyina ne nayina ebintu eby'omuwendo omungi. 01GEN024.054 And they did eat and drink, he and the men that were with him, and tarried all night; and they rose up in the morning, and he said, Send me away unto my master. %%% Ne balya ne banywa; ye n'abasajja abaali naye, ne basula ne bakeesa obudde; ne bagolokoka enkya, n'ayogera nti Munsiibute yende eri mukama wange. 01GEN024.055 And her brother and her mother said, Let the damsel abide with us a few days, at the least ten; after that she shall go. %%% Ne mwannyina ne nnyina ne boogera nti Omuwala abeere naffe amale eanaku si nnyingi, ekkumi oba kusingawo; alyoke agende. 01GEN024.056 And he said unto them, Hinder me not, seeing the LORD hath prospered my way; send me away that I may go to my master. %%%N'abagamba nti Tondwisa, kubanga Mukama awadde omukisa olugendo lwange; munsiibule ŋŋende eri mukama wange. 01GEN024.057 And they said, We will call the damsel, and enquire at her mouth. %%% Ne boogera nti Tunaayita omuwala, tumubuuze mu kamwa ke. 01GEN024.058 And they called Rebekah, and said unto her, Wilt thou go with this man? And she said, I will go. %%% Ne ayita Lebbeeka, ne bamugamba Onoogenda n'omusajja ono? N'ayogera nti Nnaagenda. 01GEN024.059 And they sent away Rebekah their sister, and her nurse, and Abraham's servant, and his men. %%% Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulenzi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be. 01GEN024.060 And they blessed Rebekah, and said unto her, Thou art our sister, be thou the mother of thousands of millions, and let thy seed possess the gate of those which hate them. %%% Ne basabira Lebbeeka omukisa, ne bamugamba nti Mwannyinaffe, beeranga nnyina w’abantu obukumi enkumi n’ezzadde lyo liryenga omulyango gw’abo ababakyawa. 01GEN024.061 And Rebekah arose, and her damsels, and they rode upon the camels, and followed the man: and the servant took Rebekah, and went his way. %%% Lebbeeka n’agolokoka n’abazaana be, ne beebagala ku ŋŋamirane bagenda n’omusajja: omuddu n’atwala Lebeeka ne yeegendera. 01GEN024.062 And Isaac came from the way of the well Lahairoi; for he dwelt in the south country. %%%Isaaka najja ng’ava mu kkubo ery’e Beerirakairoi: kubanga yali atuula mu nsi ey’obukiika obwa ddyo. 01GEN024.063 And Isaac went out to meditate in the field at the eventide: and he lifted up his eyes, and saw, and, behold, the camels were coming. %%% Isaaka n'afuluma okufumiitiriza mu nnimiro akawungeezi : n'ayimusa amaaso ge, n'atula, era, laba, eŋŋamira nga zijja. 01GEN024.064 And Rebekah lifted up her eyes, and when she saw Isaac, she lighted off the camel. %%% Lebbeeka n'ayimusa amaaso ge, era bwe yalaba Isaaka, n'ava kuŋŋamira. 01GEN024.065 For she had said unto the servant, What man is this that walketh in the field to meet us? And the servant had said, It is my master: therefore she took a vail, and covered herself. %%% N'agamba omuddu nti Musajja ki oyo atambulira mu ninniro okutusisinkaana? Omuddu n’ayogera nti Ye mukama wange: n’addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako. 01GEN024.066 And the servant told Isaac all things that he had done. %%% Omuddu n’abuulira Isaaka byonna bye yakola 01GEN024.067 And Isaac brought her into his mother Sarah's tent, and took Rebekah, and she became his wife; and he loved her: and Isaac was comforted after his mother's death. %%% Isaaka n'amuleeta mu nnyumba nnyina Saala, n'awasa Lebbeeka, n'aba mukazi we; n'amwagala: Isaaka n'asanyusibwa nnyina bwe yamala okufa. 01GEN025.001 Then again Abraham took a wife, and her name was Keturah. %%% Awo Ibulayimu n'awasa omukazi amulala, erinnya lye Ketula. 01GEN025.002 And she bare him Zimran, and Jokshan, and Medan, and Midian, and Ishbak, and Shuah. %%% Naye n'amuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa. 01GEN025.003 And Jokshan begat Sheba, and Dedan. And the sons of Dedan were Asshurim, and Letushim, and Leummim. %%% Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, ne Letusimu, ne Leumimu. 01GEN025.004 And the sons of Midian; Ephah, and Epher, and Hanoch, and Abidah, and Eldaah. All these were the children of Keturah. %%% N'abaana ba Midiyaani abasajja; Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida, ne Erudaa. Abo bonna baana ba Ketula. 01GEN025.005 And Abraham gave all that he had unto Isaac. %%% Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina. 01GEN025.006 But unto the sons of the concubines, which Abraham had, Abraham gave gifts, and sent them away from Isaac his son, while he yet lived, eastward, unto the east country. %%% Naye abaana abasajja ab'abazaana, Ibulayimu be yalina, Ibulayimu n'abawa bo ebirabo; n'abasindika okuva eri Isaaka omwana we, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende ebuvanjuba, mu nsi ey'ebuvanjuba. 01GEN025.007 And these are the days of the years of Abraham's life which he lived, an hundred threescore and fifteen years. %%% N'ennaku ez'emyaka ez'obulamu bwa IbuIayimu bwe yamala ze zino, emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. 01GEN025.008 Then Abraham gave up the ghost, and died in a good old age, an old man, and full of years; and was gathered to his people. %%% Ibulayimu n’ata omukka n'afa ng'amaze okuwangaala obulungi, nga mukadde emyaka gye nga gituukiridde: n'atwalibwa eri abantu be. 01GEN025.009 And his sons Isaac and Ishmael buried him in the cave of Machpelah, in the field of Ephron the son of Zohar the Hittite, which is before Mamre; %%% Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku ya Makupeera, mu Iusuku lwa Efulooni omwana wa Zokali Omukiiti, olutunuulira Mamule; 01GEN025.010 The field which Abraham purchased of the sons of Heth: there was Abraham buried, and Sarah his wife. %%% olusuku abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu: Ibulayimu mwe baamuziika omwo ne Saala mukazi we. 01GEN025.011 And it came to pass after the death of Abraham, that God blessed his son Isaac; and Isaac dwelt by the well Lahairoi. %%% Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga ku Beerirakairoi. 01GEN025.012 Now these are the generations of Ishmael, Abraham's son, whom Hagar the Egyptian, Sarah's handmaid, bare unto Abraham: %%% Era okuzaala kwa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu Agali Omamisiri, omuzaana wa Saala, gwe yazaalira Ibulayimu, kwe kuno: 01GEN025.013 And these are the names of the sons of Ishmael, by their names, according to their generations: the firstborn of Ishmael, Nebajoth; and Kedar, and Adbeel, and Mibsam, %%% n'abaana ba Isimarei, amannya gaabwe nga bwe gaali, nga bwe baazaalibwa, amannya gaabwe ge gano: omubereberye wa Isimaeri, Nebayoosi; ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 01GEN025.014 And Mishma, and Dumah, and Massa, %%% ne Misuma, ne Duma, ne Masa; 01GEN025.015 Hadar, and Tema, Jetur, Naphish, and Kedemah: %%% Kadadi ne Teenna, Yettili, Nafisi, ne Kedema: 01GEN025.016 These are the sons of Ishmael, and these are their names, by their towns, and by their castles; twelve princes according to their nations. %%% abo be baana ba Isimaeri, era ago ge mannya gaabwe, ng'ebyalo byabwe bwe byali, era nga bwe baakuba eweema zaabwe; abalangira kkumi na babiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali. 01GEN025.017 And these are the years of the life of Ishmael, an hundred and thirty and seven years: and he gave up the ghost and died; and was gathered unto his people. %%% N'emyaka gya Isimaeri gye yamala, emyaka kikumi mu asatu mu musanvu: n'ata omukka n'afa; n'atwalibwa eri abantu be. 01GEN025.018 And they dwelt from Havilah unto Shur, that is before Egypt, as thou goest toward Assyria: and he died in the presence of all his brethren. %%% Ne batuula okuva ku Kavira okutuuka ku Ssuuli ekitunuulira Misiri, ng'ogenda e Bwasuli: yatuulanga mu maaso ga baganda be bonna. 01GEN025.019 And these are the generations of Isaac, Abraham's son: Abraham begat Isaac: %%% N'okuzaala kwa Isaaka, omwa-i na wa Ibulayimu, kwe kuno: Ibulayimu yazaala Isaaka: 01GEN025.020 And Isaac was forty years old when he took Rebekah to wife, the daughter of Bethuel the Syrian of Padanaram, the sister to Laban the Syrian. %%% era Isaaka yali yaakamaze emyaka ana bwe, yawasa Lebbeeka, omwana wa, Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu, mwannyina Labbaani Omusuuli, okuba mukazi we. 01GEN025.021 And Isaac intreated the LORD for his wife, because she was barren: and the LORD was intreated of him, and Rebekah his wife conceived. %%% Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto. 01GEN025.022 And the children struggled together within her; and she said, If it be so, why am I thus? And she went to enquire of the LORD. %%% Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti Bwe kiri bwe kityo, kyenva mbeera, omulamu kiki? N'agenda okubuuza Mukama. 01GEN025.023 And the LORD said unto her, Two nations are in thy womb, and two manner of people shall be separated from thy bowels; and the one people shall be stronger than the other people; and the elder shall serve the younger. %%% Mukama n'amugamba nti Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto. 01GEN025.024 And when her days to be delivered were fulfilled, behold, there were twins in her womb. %%% Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe. 01GEN025.025 And the first came out red, all over like an hairy garment; and they called his name Esau. %%% N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya: ne bamutuuma erinnya lye Esawu. 01GEN025.026 And after that came his brother out, and his hand took hold on Esau's heel; and his name was called Jacob: and Isaac was threescore years old when she bare them. %%% Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo: era Isaaka yali yaakamaze emyaka nkaaga, mukazi we bwe yabazaala. 01GEN025.027 And the boys grew: and Esau was a cunning hunter, a man of the field; and Jacob was a plain man, dwelling in tents. %%% Abalenzi ne bakula: Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema. 01GEN025.028 And Isaac loved Esau, because he did eat of his venison: but Rebekah loved Jacob. %%% Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe: ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo. 01GEN025.029 And Jacob sod pottage: and Esau came from the field, and he was faint: %%% Yakobo n'afumba omugoyo: Esawu n'ayingira ng'a vudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi: 01GEN025.030 And Esau said to Jacob, Feed me, I pray thee, with that same red pottage; for I am faint: therefore was his name called Edom. %%% Esawu n'agamba Yakobo nti Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi: erinnya lye kye lyava liyitibwa Edomu. 01GEN025.031 And Jacob said, Sell me this day thy birthright. %%% Yakobo n'ayogera nti Nguza leero eby'obukulu bwo. 01GEN025.032 And Esau said, Behold, I am at the point to die: and what profit shall this birthright do to me? %%% Esawu n'ayogera nti Laba, mbulako katono iokufa: n'eby'obukulu biringasa bitya? 01GEN025.033 And Jacob said, Swear to me this day; and he sware unto him: and he sold his birthright unto Jacob. %%% Yakobo n'amugamba nti Ndayirira leero; n'amulayirira: n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe. 01GEN025.034 Then Jacob gave Esau bread and pottage of lentiles; and he did eat and drink, and rose up, and went his way: thus Esau despised his birthright. %%% Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, ne yeegendera: bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe. 01GEN026.001 And there was a famine in the land, beside the first famine that was in the days of Abraham. And Isaac went unto Abimelech king of the Philistines unto Gerar. %%% Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo ey'olubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali. 01GEN026.002 And the LORD appeared unto him, and said, Go not down into Egypt; dwell in the land which I shall tell thee of: %%% Mukama n'amulabikira, n'ayogera nti Toserengeta mu Misiri; tuula mu nsi gye nnakugambako: 01GEN026.003 Sojourn in this land, and I will be with thee, and will bless thee; for unto thee, and unto thy seed, I will give all these countries, and I will perform the oath which I sware unto Abraham thy father; %%% beera mu nsi eno, nange naabeeranga wamu naawe, era naakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo; 01GEN026.004 And I will make thy seed to multiply as the stars of heaven, and will give unto thy seed all these countries; and in thy seed shall all the nations of the earth be blessed; %%% era naayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; 01GEN026.005 Because that Abraham obeyed my voice, and kept my charge, my commandments, my statutes, and my laws. %%% kubanga Ibulayimu yawuliranga eddoboozi lyange, ne yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange, n'ebiragiro byange. 01GEN026.006 And Isaac dwelt in Gerar: %%% Isaaka n'atuula mu Gerali: 01GEN026.007 And the men of the place asked him of his wife; and he said, She is my sister: for he feared to say, She is my wife; lest, said he, the men of the place should kill me for Rebekah; because she was fair to look upon. %%% abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti Ye mwannyinaze: kubanga yatya okwogera nti Mukazi wange; abasajja baawo baleme okunzita olwa Lebbeeka: kubanga yali mulungi okulaba. 01GEN026.008 And it came to pass, when he had been there a long time, that Abimelech king of the Philistines looked out at a window, and saw, and, behold, Isaac was sporting with Rebekah his wife. %%% Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunuulira mu ddirisa, n'alaba, era laba, Isaaka yali ng'azannya ne Lebbeeka mukazi we. 01GEN026.009 And Abimelech called Isaac, and said, Behold, of a surety she is thy wife: and how saidst thou, She is my sister? And Isaac said unto him, Because I said, Lest I die for her. %%% Abimereki n’ayita Isaaka n'amugamba nti Laba mazima ye mukazi wo: naawe wayogera otyo nti ye mwannyinaze? Isaaka n’amugamba nti Kubanga nali njogera nti Nneme okufa ku bubwe. 01GEN026.010 And Abimelech said, What is this thou hast done unto us? one of the people might lightly have lien with thy wife, and thou shouldest have brought guiltiness upon us. %%% Abimereki n'ayogera nti Kino kiki ky'otukoze? omu ku bantu yaadisuze ne mukazi wo nga talowoozezza, naawe wandituleeseeko omusango. 01GEN026.011 And Abimelech charged all his people, saying, He that toucheth this man or his wife shall surely be put to death. %%% Abimereki n'akuutira abantu bonna, ng'ayogera Buli anaakwatanga ku musajja oyo oba mukazi we talirema kuttibwa. 01GEN026.012 Then Isaac sowed in that land, and received in the same year an hundredfold: and the LORD blessed him. %%% Isaaka n'asiga mu nsi eyo, n'afuna mu mwaka ogwo emirundi kikumi: Mukama n'amuwa omukisa. 01GEN026.013 And the man waxed great, and went forward, and grew until he became very great: %%% Omusajja n'akula ne yeeyongerayongeranga okutuusa bwe yali omukulu ennyo: 01GEN026.014 For he had possession of flocks, and possession of herds, and great store of servants: and the Philistines envied him. %%% era yaluna embuzi ze n'ente ze, n'abaddu baagi: n'akwasa Abafirisuuti obuggya. 01GEN026.015 For all the wells which his father's servants had digged in the days of Abraham his father, the Philistines had stopped them, and filled them with earth. %%% Awo enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe, Abafirisuuti baali nga bazizibye era nga bazijjuzizza ettaka. 01GEN026.016 And Abimelech said unto Isaac, Go from us; for thou art much mightier than we. %%% Abimereki n'agamba Isaaka nti genda tuveeko; kubanga otusinga nnyo amaanyi. 01GEN026.017 And Isaac departed thence, and pitched his tent in the valley of Gerar, and dwelt there. %%% Isaaka n’avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerali, n'atuula omwo. 01GEN026.018 And Isaac digged again the wells of water, which they had digged in the days of Abraham his father; for the Philistines had stopped them after the death of Abraham: and he called their names after the names by which his father had called them. %%% Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafrrisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa: n'aziyita amannya gaazo ag'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma. 01GEN026.019 And Isaac's servants digged in the valley, and found there a well of springing water. %%% Abaddu ba Isaaka ne basima mu kiwonvu, ne balaba omwo oluzzi Iw'amazzi amalamu. 01GEN026.020 And the herdmen of Gerar did strive with Isaac's herdmen, saying, The water is ours: and he called the name of the well Esek; because they strove with him. %%% N'abasumba ab'e Gerali ne bawakanya abasumba ba Isaaka, nga boogera nti' Amazzi gaffe: n'atuuma oluzzi erinnya lyalwo Eseki; kubanga baawakana naye. 01GEN026.021 And they digged another well, and strove for that also: and he called the name of it Sitnah. %%% Ne basima oluzzi olulala, era a'olwo ne baluwakaaira: n'alutuuma erinnya lyalwo Situna. 01GEN026.022 And he removed from thence, and digged another well; and for that they strove not: and he called the name of it Rehoboth; and he said, For now the LORD hath made room for us, and we shall be fruitful in the land. %%% N'ajjulukuka okuvaayo, n'asima oluzzi olulala; n'olwo ne bataluwakanira; n'alutuuma erinnya lyalwo Lekobosi; n'ayogera nti Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi. 01GEN026.023 And he went up from thence to Beersheba. %%% N'avaayo n'aYambuka e Beeruseba. 01GEN026.024 And the LORD appeared unto him the same night, and said, I am the God of Abraham thy father: fear not, for I am with thee, and will bless thee, and multiply thy seed for my servant Abraham's sake. %%% Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo: totya, kubanga nze ndi wamu naawe era naakuwanga omukisa, era naayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu. 01GEN026.025 And he builded an altar there, and called upon the name of the LORD, and pitched his tent there: and there Isaac's servants digged a well. %%% N'azimba ekyoto eyo, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye: n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi. 01GEN026.026 Then Abimelech went to him from Gerar, and Ahuzzath one of his friends, and Phichol the chief captain of his army. %%% Abimereki n'alyoka ava mu Gerali n’agenda gy'ali, ne Akuzasi mukwano gwe, ne Fikoli omukulu w'eggye lye. 01GEN026.027 And Isaac said unto them, Wherefore come ye to me, seeing ye hate me, and have sent me away from you? %%% Isaaka n'abagamba ati Kiki ekibaleese gye ndi, bwe muba nga munkyawa, era mwangoba gye muli? 01GEN026.028 And they said, We saw certainly that the LORD was with thee: and we said, Let there be now an oath betwixt us, even betwixt us and thee, and let us make a covenant with thee; %%% Ne boogera nti Twalabira ddala nga Mukama ali naawe: ne twogera nti Wabeere nno ekirayiro gye tuli, wakati waffe naawe, era tulagaane endagaano naawe; 01GEN026.029 That thou wilt do us no hurt, as we have not touched thee, and as we have done unto thee nothing but good, and have sent thee away in peace: thou art now the blessed of the LORD. %%% obutatukolerangako kabi, nga ffe bwe tutakukwatangako, era nga bwe tutakukoleranga kantu wabula ebirungi, era ne tukusindika n'emirembe; kaakano ggwe oyo Mukama gw'awa omukisa. 01GEN026.030 And he made them a feast, and they did eat and drink. %%% N'abafumbira embaga, ne balya ne banywa. 01GEN026.031 And they rose up betimes in the morning, and sware one to another: and Isaac sent them away, and they departed from him in peace. %%% Ne bagolokoka enkya mu makya, ne balayiragana: Isaaka n'abasiibula, ne bamuvaako n'emirembe. 01GEN026.032 And it came to pass the same day, that Isaac's servants came, and told him concerning the well which they had digged, and said unto him, We have found water. %%% Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba ati Tulabye amazzi. 01GEN026.033 And he called it Shebah: therefore the name of the city is Beersheba unto this day. %%% N'alutuuma Siba; erinnya ly'ekibuga kyeriva libeera Beeruseba ne leero. 01GEN026.034 And Esau was forty years old when he took to wife Judith the daughter of Beeri the Hittite, and Bashemath the daughter of Elon the Hittite: %%% Esawu bwe yali nga yaakamaze emyaka ana n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti: 01GEN026.035 Which were a grief of mind unto Isaac and to Rebekah. %%% ne banakuwaza Isaaka ne Lebbeeka emmeeme zaabwe. 01GEN027.001 And it came to pass, that when Isaac was old, and his eyes were dim, so that he could not see, he called Esau his eldest son, and said unto him, My son: and he said unto him, Behold, here am I. %%% Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti Mwana wange: n'amugamba nti Nze nzuuno. 01GEN027.002 And he said, Behold now, I am old, I know not the day of my death: %%% N'ayogera nti Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. 01GEN027.003 Now therefore take, I pray thee, thy weapons, thy quiver and thy bow, and go out to the field, and take me some venison; %%% Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza, omufuko gwo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo; 01GEN027.004 And make me savoury meat, such as I love, and bring it to me, that I may eat; that my soul may bless thee before I die. %%% era onnongooseze ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere, ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa. 01GEN027.005 And Rebekah heard when Isaac spake to Esau his son. And Esau went to the field to hunt for venison, and to bring it. %%% Lebbeeka n'awulira Isaaka bwe yayogera ne Esawu omwana we. Esawu n'agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n'okuguleeta. 01GEN027.006 And Rebekah spake unto Jacob her son, saying, Behold, I heard thy father speak unto Esau thy brother, saying, %%% Lebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti Laba, mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti 01GEN027.007 Bring me venison, and make me savoury meat, that I may eat, and bless thee before the LORD before my death. %%% Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa. 01GEN027.008 Now therefore, my son, obey my voice according to that which I command thee. %%% Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange ng'ebyo bwe biri bye nkulagira. 01GEN027.009 Go now to the flock, and fetch me from thence two good kids of the goats; and I will make them savoury meat for thy father, such as he loveth: %%% Genda kaakano eri embuzi, onkimireyo abaana b'embuzi abalungi babiri; nange naazirongooseza kitaawo okuba ennyama ey'akawoowo, nga bw'ayagala: 01GEN027.010 And thou shalt bring it to thy father, that he may eat, and that he may bless thee before his death. %%% naawe onoogitwalira kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa. 01GEN027.011 And Jacob said to Rebekah his mother, Behold, Esau my brother is a hairy man, and I am a smooth man: %%% Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti Laba, Esawu muganda wange ye musajja ow'obwoya, nange omubiri gwange guseerera. 01GEN027.012 My father peradventure will feel me, and I shall seem to him as a deceiver; and I shall bring a curse upon me, and not a blessing. %%% Mpozzi kitange anampeeweetako, nange naafaanana gyali ng'omulimba; era neereetako okukolimirwa, so si mukisa. 01GEN027.013 And his mother said unto him, Upon me be thy curse, my son: only obey my voice, and go fetch me them. %%% Nnyina namugamba nti Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange: kino kyokka, wulira eddoboozi lyange, ogende obinkimire. 01GEN027.014 And he went, and fetched, and brought them to his mother: and his mother made savoury meat, such as his father loved. %%% N'agenda, n'abikima, n'abireetera nnyina : nnyina n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, nga kitaawe bwe yayagala. 01GEN027.015 And Rebekah took goodly raiment of her eldest son Esau, which were with her in the house, and put them upon Jacob her younger son: %%% Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'ayambaza ebyo Yakobo omwana we omuto: 01GEN027.016 And she put the skins of the kids of the goats upon his hands, and upon the smooth of his neck: %%% n'ateeka amaliba g'abaana b'embuzi ku ngalo ze, ne ku nsiago awaseerera: 01GEN027.017 And she gave the savoury meat and the bread, which she had prepared, into the hand of her son Jacob. %%% n'awa omwana we Yakobo mu ngalo ze ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali aloagoosezza. 01GEN027.018 And he came unto his father, and said, My father: and he said, Here am I; who art thou, my son? %%% N'ajja eri kitaawe, n'ayogera nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange? 01GEN027.019 And Jacob said unto his father, I am Esau thy first born; I have done according as thou badest me: arise, I pray thee, sit and eat of my venison, that thy soul may bless me. %%% Yakobo n'agamba kitaawe nti Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bw'ondagidde: golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, obulamu bwo bunsabire omukisa. 01GEN027.020 And Isaac said unto his son, How is it that thou hast found it so quickly, my son? And he said, Because the LORD thy God brought it to me. %%% Isaaka n'agamba omwana we nti Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange? N'ayogera nti Kubanga Mukama Katonda wo ambedde. 01GEN027.021 And Isaac said unto Jacob, Come near, I pray thee, that I may feel thee, my son, whether thou be my very son Esau or not. %%% Isaaka n'agamba Yakobo nti Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala nantiki si ye wuuyo. 01GEN027.022 And Jacob went near unto Isaac his father; and he felt him, and said, The voice is Jacob's voice, but the hands are the hands of Esau. %%% Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu. 01GEN027.023 And he discerned him not, because his hands were hairy, as his brother Esau's hands: so he blessed him. %%% N'atamwekkaanya, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu: kale n'amusabira omukisa. 01GEN027.024 And he said, Art thou my very son Esau? And he said, I am. %%% N'ayogera nti gwe mwana wange Esawu ddala ddala? N'ayogera nti Nze nzuuyo. 01GEN027.025 And he said, Bring it near to me, and I will eat of my son's venison, that my soul may bless thee. And he brought it near to him, and he did eat: and he brought him wine, and he drank. %%% N'ayogera nti Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, obulamu bwange bukusabire omukisa. N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera omwenge, n'anywa. 01GEN027.026 And his father Isaac said unto him, Come near now, and kiss me, my son. %%% Kitaawe Isaaka n'amugamba nti Sembera kaakanoonnywegere, mwana wange 01GEN027.027 And he came near, and kissed him: and he smelled the smell of his raiment, and blessed him, and said, See, the smell of my son is as the smell of a field which the LORD hath blessed: %%% N’asembera, n'amunywegera n'awulira akaloosa ek'ebyambalo bye, n'amusabira omukisa, n'ayogera nti Laba, akaloosa ak'omwana wange Kalintlanga akaloosa ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa: 01GEN027.028 Therefore God give thee of the dew of heaven, and the fatness of the earth, and plenty of corn and wine: %%% Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, Ne ku bugimu obw'ensi, N'entlaano nnyingi a'omwenge mungi: 01GEN027.029 Let people serve thee, and nations bow down to thee: be lord over thy brethren, and let thy mother's sons bow down to thee: cursed be every one that curseth thee, and blessed be he that blesseth thee. %%% Abantu bakuweerezenga N'amawaanga gakuvuunamirenga: Ofugenga baganda bo, N'abaana ba nayoko bakuvuunamirenga: Akolimirwenga buli akukolimira, Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa. 01GEN027.030 And it came to pass, as soon as Isaac had made an end of blessing Jacob, and Jacob was yet scarce gone out from the presence of Isaac his father, that Esau his brother came in from his hunting. %%% Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo tannaviira ddala eri Isaaka kitaawe, Esawu muganda we n’alyoka ayingira ng'avudde okuyigga. 01GEN027.031 And he also had made savoury meat, and brought it unto his father, and said unto his father, Let my father arise, and eat of his son's venison, that thy soul may bless me. %%% Era naye n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti Kitange agolokoke, alye ku muyiggo ogw'omwana we, obulamu bwo bunsabire omukisa. 01GEN027.032 And Isaac his father said unto him, Who art thou? And he said, I am thy son, thy firstborn Esau. %%% Isaaka kitaawe n'amugamba nti Ggwe ani? N'ayogera nti Nze mwana wo, omubereberye wo, Esawu. 01GEN027.033 And Isaac trembled very exceedingly, and said, Who? where is he that hath taken venison, and brought it me, and I have eaten of all before thou camest, and have blessed him? yea, and he shall be blessed. %%% Isaaka n'akankana nnyo nayini, n'ayogera nti Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n’agundeetera, nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne mmusabira omukisa? era naye n'okuweebwa aliweebwa omukisa. 01GEN027.034 And when Esau heard the words of his father, he cried with a great and exceeding bitter cry, and said unto his father, Bless me, even me also, O my father. %%% Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba okukaaba okunene ennyo era okw'ennaku enayingi, n'agamba kitaawe nti Nsabira nze, era nange, ai kitange. 01GEN027.035 And he said, Thy brother came with subtilty, and hath taken away thy blessing. %%% N'ayogera nti Muganda wo azze ng'alimba, era akuggyeko omukisa gwo. 01GEN027.036 And he said, Is not he rightly named Jacob? for he hath supplanted me these two times: he took away my birthright; and, behold, now he hath taken away my blessing. And he said, Hast thou not reserved a blessing for me? %%% N'ayogera nti Teyatuumibwa bulungi erinnya lye Yakobo? kubanga annyingiriridde mu byange emirundi gino gyombi: yanziyako eby'obukulu bwange; ne kaakano, laba anziyeeko omukisa gwange. N'ayogera nti Tonterekedde nange mukisa? 01GEN027.037 And Isaac answered and said unto Esau, Behold, I have made him thy lord, and all his brethren have I given to him for servants; and with corn and wine have I sustained him: and what shall I do now unto thee, my son? %%% Isaaka n'addama n'agamba Esawu nti Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbawadde eri ye okumuweerezanga; era mmujjaajabye n'eŋŋaano n'omwenge: kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange? 01GEN027.038 And Esau said unto his father, Hast thou but one blessing, my father? bless me, even me also, O my father. And Esau lifted up his voice, and wept. %%% Esawu n'agamba kitaawe nti Olina omukisa gumu gwokka, kitange? nsabira nze, era nange, ai kitange. Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. 01GEN027.039 And Isaac his father answered and said unto him, Behold, thy dwelling shall be the fatness of the earth, and of the dew of heaven from above; %%% Isaaka kitaawe n'addamu n'amugamba nti Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu; 01GEN027.040 And by thy sword shalt thou live, and shalt serve thy brother; and it shall come to pass when thou shalt have the dominion, that thou shalt break his yoke from off thy neck. %%% N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Olikunkumula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo. 01GEN027.041 And Esau hated Jacob because of the blessing wherewith his father blessed him: and Esau said in his heart, The days of mourning for my father are at hand; then will I slay my brother Jacob. %%% Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira: Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti Ennaku ez'okukaabira kitange ziriteta okutuuka; ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo. 01GEN027.042 And these words of Esau her elder son were told to Rebekah: and she sent and called Jacob her younger son, and said unto him, Behold, thy brother Esau, as touching thee, doth comfort himself, purposing to kill thee. %%% Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta. 01GEN027.043 Now therefore, my son, obey my voice; and arise, flee thou to Laban my brother to Haran; %%% Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange; ogolokoke, oddukire eri Labbaani mwannyinaze mu Kalani: 01GEN027.044 And tarry with him a few days, until thy brother's fury turn away; %%% omaleyo naye ennaku si nnyingi, okutuusa obukambwe bwa muganda wo lwe bulyekooloobya; 01GEN027.045 Until thy brother's anger turn away from thee, and he forget that which thou hast done to him: then I will send, and fetch thee from thence: why should I be deprived also of you both in one day? %%% obusungu bwa muganda wo lwe bulyekooloobya gy'oli, naye lw'alyerabira kye wamukolera: ne ndyoka ntuma, ne nkuggyayo: kiki ekyandinfiisizzaako mmwe mmwembi ku lunaku olumu? 01GEN027.046 And Rebekah said to Isaac, I am weary of my life because of the daughters of Heth: if Jacob take a wife of the daughters of Heth, such as these which are of the daughters of the land, what good shall my life do me? %%% Lebbeeka n'agamba Isaaka nti Obulamu bwange bunkooyesezza olw'abawala ba Keesi: Yakobo bw'aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi, abali nga abo, ku bawala ab'omu nsi eno, obulamu bwange bulingasa butya? 01GEN028.001 And Isaac called Jacob, and blessed him, and charged him, and said unto him, Thou shalt not take a wife of the daughters of Canaan. %%% Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani. 01GEN028.002 Arise, go to Padanaram, to the house of Bethuel thy mother's father; and take thee a wife from thence of the daughters of Laban thy mother's brother. %%% Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani mwannyina wa nnyoko. 01GEN028.003 And God Almighty bless thee, and make thee fruitful, and multiply thee, that thou mayest be a multitude of people; %%% Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwongerenga, ofuuke ekibiina ky'amawanga; 01GEN028.004 And give thee the blessing of Abraham, to thee, and to thy seed with thee; that thou mayest inherit the land wherein thou art a stranger, which God gave unto Abraham. %%% era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo awamu naawe; osikire ensi gye watambuliramu, Katonda gye yawa Ibulayimu. 01GEN028.005 And Isaac sent away Jacob: and he went to Padanaram unto Laban, son of Bethuel the Syrian, the brother of Rebekah, Jacob's and Esau's mother. %%% Isaaka n'asindika Yakobo: n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu. 01GEN028.006 When Esau saw that Isaac had blessed Jacob, and sent him away to Padanaram, to take him a wife from thence; and that as he blessed him he gave him a charge, saying, Thou shalt not take a wife of the daughters of Canaan; %%% Era Esawu n'alaba nga Isaaka yasabira Yakobo omukisa n'amusindika okugenda e Padanalaamu, okwewasizaayo omukazi; era bwe yamusabira omukisa n'amukuutira ng'ayogera nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani; 01GEN028.007 And that Jacob obeyed his father and his mother, and was gone to Padanaram; %%% era nga Yakobo n'awulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu: 01GEN028.008 And Esau seeing that the daughters of Canaan pleased not Isaac his father; %%% Esawu n'alaba ng'abawala ba Kanani tebaasanyusa Isaaka kitaawe; 01GEN028.009 Then went Esau unto Ishmael, and took unto the wives which he had Mahalath the daughter of Ishmael Abraham's son, the sister of Nebajoth, to be his wife. %%% Esawu n'agenda eri Isimaeri, n'awasa wamu n'abakazi be yalina Makalasi muwala wa Isimaeri omwana wa Ibulayimu, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we. 01GEN028.010 And Jacob went out from Beersheba, and went toward Haran. %%%Yakobo n'ava mu Beeruseba n'agenda eri Kalani. 01GEN028.011 And he lighted upon a certain place, and tarried there all night, because the sun was set; and he took of the stones of that place, and put them for his pillows, and lay down in that place to sleep. %%% N'atuuka mu kifo, n'asulawo n'akeesa obudde, kubanga enjuba yali egudde; n'atwala erimu ku mayinja ag'omu kifo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira mu kifo ekyo okwebaka. 01GEN028.012 And he dreamed, and behold a ladder set up on the earth, and the top of it reached to heaven: and behold the angels of God ascending and descending on it. %%% N'aloota ekirooto, era, laba, amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuse muggulu: era laba bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku go. 01GEN028.013 And, behold, the LORD stood above it, and said, I am the LORD God of Abraham thy father, and the God of Isaac: the land whereon thou liest, to thee will I give it, and to thy seed; %%% Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo; 01GEN028.014 And thy seed shall be as the dust of the earth, and thou shalt spread abroad to the west, and to the east, and to the north, and to the south: and in thee and in thy seed shall all the families of the earth be blessed. %%% n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukiika obwa kkono, n'obwa ddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa. 01GEN028.015 And, behold, I am with thee, and will keep thee in all places whither thou goest, and will bring thee again into this land; for I will not leave thee, until I have done that which I have spoken to thee of. %%% Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko. 01GEN028.016 And Jacob awaked out of his sleep, and he said, Surely the LORD is in this place; and I knew it not. %%% Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi. 01GEN028.017 And he was afraid, and said, How dreadful is this place! this is none other but the house of God, and this is the gate of heaven. %%% N'atya, n'ayogera nti Ekifo kino nga kya ntiisa (ekifo) kino ye nnyumba ya Katonda ddala mazima, era gwe mulyango gw'eggulu. 01GEN028.018 And Jacob rose up early in the morning, and took the stone that he had put for his pillows, and set it up for a pillar, and poured oil upon the top of it. %%% Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo. 01GEN028.019 And he called the name of that place Bethel: but the name of that city was called Luz at the first. %%% N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri naye erinnya ly'ekibuga olubereberye lyali Luzi. 01GEN028.020 And Jacob vowed a vow, saying, If God will be with me, and will keep me in this way that I go, and will give me bread to eat, and raiment to put on, %%% Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala, 01GEN028.021 So that I come again to my father's house in peace; then shall the LORD be my God: %%% n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange, 01GEN028.022 And this stone, which I have set for a pillar, shall be God's house: and of all that thou shalt give me I will surely give the tenth unto thee. %%% n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda: era ku byonna by'onompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi. 01GEN029.001 Then Jacob went on his journey, and came into the land of the people of the east. %%% Yakobo n'alyoka agenda ng'atambula, n'ajja mu nsi ey'abaana ab'ebuvanjuba. 01GEN029.002 And he looked, and behold a well in the field, and, lo, there were three flocks of sheep lying by it; for out of that well they watered the flocks: and a great stone was upon the well's mouth. %%% N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro, era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi: kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo: n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene. 01GEN029.003 And thither were all the flocks gathered: and they rolled the stone from the well's mouth, and watered the sheep, and put the stone again upon the well's mouth in his place. %%% N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo: ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi, ne banywesa endiga, ne bazza ejjinja ku kamwa k'oluzzi, mu kifo kyalyo. 01GEN029.004 And Jacob said unto them, My brethren, whence be ye? And they said, Of Haran are we. %%% Yakobo n'abagamba nti Baganda bange, muva wa? Ne boogera nti Tuli ba Kalani. 01GEN029.005 And he said unto them, Know ye Laban the son of Nahor? And they said, We know him. %%% N'abagamba nti Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli? Ne boogera nti Tumumanyi. 01GEN029.006 And he said unto them, Is he well? And they said, He is well: and, behold, Rachel his daughter cometh with the sheep. %%% N'abagamba nti Mulamu? Ne boogera nti Mulamu: era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga. 01GEN029.007 And he said, Lo, it is yet high day, neither is it time that the cattle should be gathered together: water ye the sheep, and go and feed them. %%% N'ayogera nti Laba, enjuba ekyali mu luggya; so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa: munywese endiga, mugende muziriise. 01GEN029.008 And they said, We cannot, until all the flocks be gathered together, and till they roll the stone from the well's mouth; then we water the sheep. %%% Ne boogera nti Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa, ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi: ne tulyoka tunywesa endiga. 01GEN029.009 And while he yet spake with them, Rachel came with her father's sheep: for she kept them. %%% Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga ye yazirundanga. 01GEN029.010 And it came to pass, when Jacob saw Rachel the daughter of Laban his mother's brother, and the sheep of Laban his mother's brother, that Jacob went near, and rolled the stone from the well's mouth, and watered the flock of Laban his mother's brother. %%% Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani mwannyina nnyina n'endiga za Labbaani mwannyina nnyina, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku kamwa k'oluzzi, n’anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina. 01GEN029.011 And Jacob kissed Rachel, and lifted up his voice, and wept. %%% Yakobo n'anywegera Laakeeri, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. 01GEN029.012 And Jacob told Rachel that he was her father's brother, and that he was Rebekah's son: and she ran and told her father. %%% Yakobo n'abuulira Laakeeri nga ye muganda wa kitaawe, era nga ye mwana wa Lebbeeka: n'addukana mbiro n'abuulira kitaawe. 01GEN029.013 And it came to pass, when Laban heard the tidings of Jacob his sister's son, that he ran to meet him, and embraced him, and kissed him, and brought him to his house. And he told Laban all these things. %%% Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina n'addukana okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. N'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna. 01GEN029.014 And Laban said to him, Surely thou art my bone and my flesh. And he abode with him the space of a month. %%% Labbaani n'amugamba nti Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange. N'atuula naye n'amalayo omwezi gumu. 01GEN029.015 And Laban said unto Jacob, Because thou art my brother, shouldest thou therefore serve me for nought? tell me, what shall thy wages be? %%% Labbaani n'agamba Yakobo nti Kubanga oli muganda wange kyekiva kikugwanira okumpeererezanga obwereere? mbuulira, empeera yo eneebanga ki? 01GEN029.016 And Laban had two daughters: the name of the elder was Leah, and the name of the younger was Rachel. %%% Era Labbaani yalina abawala babiri: erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri. 01GEN029.017 Leah was tender eyed; but Rachel was beautiful and well favoured. %%% Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge ga kusanyusa. 01GEN029.018 And Jacob loved Rachel; and said, I will serve thee seven years for Rachel thy younger daughter.%%% Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti Naakuweererezanga emyaka musanvu mpeebwe Laakeeri omwana wo omuto. 01GEN029.019 And Laban said, It is better that I give her to thee, than that I should give her to another man: abide with me. %%% Labbaani n'ayogera nti Waakiri mmukuwe ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala; beera nange. 01GEN029.020 And Jacob served seven years for Rachel; and they seemed unto him but a few days, for the love he had to her. %%% Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gifaanana ng'ennaku si nnyingi olw'okwagala kwe yamwagala. 01GEN029.021 And Jacob said unto Laban, Give me my wife, for my days are fulfilled, that I may go in unto her. %%% Yakobo n'agamba Labbaani nti Mpa omukazi wange, kubanga ennaku zange zituukiridde, nnyingire gy'ali. 01GEN029.022 And Laban gathered together all the men of the place, and made a feast. %%% Labbaani n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga. 01GEN029.023 And it came to pass in the evening, that he took Leah his daughter, and brought her to him; and he went in unto her. %%% Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; n'ayingira gy'ali. 01GEN029.024 And Laban gave unto his daughter Leah Zilpah his maid for an handmaid. %%% Labbaani n'amuwa Zirupa omuzaana we eri omwana we Leeya okuba omuzaana. 01GEN029.025 And it came to pass, that in the morning, behold, it was Leah: and he said to Laban, What is this thou hast done unto me? did not I serve with thee for Rachel? wherefore then hast thou beguiled me? %%% Awo olwatuuka enkya n'alaba nga ye Leeya: n'agamba Labbaani nti Kino kiki ky'onkoze? saakuweereza lwa Laakeeri? kale kiki ekikunnimbizza? 01GEN029.026 And Laban said, It must not be so done in our country, to give the younger before the firstborn. %%% Labbaani n'ayogera nti Tebakola bwe batyo mu kifo kyaffe okuwa omuto okusooka omubereberye. 01GEN029.027 Fulfil her week, and we will give thee this also for the service which thou shalt serve with me yet seven other years. %%% Mala ennaku musanvu ez'oyo, tulyoke tukuwe n'omulala olw'okuweereza kw'onompeerezanga nate emyaka omusanvu emirala. 01GEN029.028 And Jacob did so, and fulfilled her week: and he gave him Rachel his daughter to wife also. %%% Yakobo n'akola bw'atyo, n'amala ennaku ze musanvu: n'amuwa Laakeeri omwana we okumuwasa. 01GEN029.029 And Laban gave to Rachel his daughter Bilhah his handmaid to be her maid. %%% Labbaani n'awa Laakeeri omwana we Bira omuzaana we okuba omuzaana we. 01GEN029.030 And he went in also unto Rachel, and he loved also Rachel more than Leah, and served with him yet seven other years. %%% Era n'ayingira n'eri Laakeeri, era n'ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n'amuweerereza nate emyaka musanvu emirala. 01GEN029.031 And when the LORD saw that Leah was hated, he opened her womb: but Rachel was barren. %%% Mukama n’alaaba nga Leeya yakyibwa, n'asumula olubuto lwe naye Laakeeri yali mugumba. 01GEN029.032 And Leah conceived, and bare a son, and she called his name Reuben: for she said, Surely the LORD hath looked upon my affliction; now therefore my husband will love me. %%% Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi n’amutuuma erinnya lye Lewubeni: kubanga yayogera nti Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala. 01GEN029.033 And she conceived again, and bare a son; and said, Because the LORD hath heard that I was hated, he hath therefore given me this son also: and she called his name Simeon. %%% N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa kyavudde ampa n'omwana ono era: n'amutuuma erinnya lye Simyoni. 01GEN029.034 And she conceived again, and bare a son; and said, Now this time will my husband be joined unto me, because I have born him three sons: therefore was his name called Levi. %%% N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu: erinnya lye kyeryava liba Leevi. 01GEN029.035 And she conceived again, and bare a son: and she said, Now will I praise the LORD: therefore she called his name Judah; and left bearing. %%% N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Omulundi guno naamutendereza Mukama: kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'aleekera awo okuzaala. 01GEN030.001 And when Rachel saw that she bare Jacob no children, Rachel envied her sister; and said unto Jacob, Give me children, or else I die. %%% Laakeeri bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, Laakeeri n'akwatirwa obuggya muganda we; n'agamba Yakobo nti Mpa abaana, oba tompe, n'afa. 01GEN030.002 And Jacob's anger was kindled against Rachel: and he said, Am I in God's stead, who hath withheld from thee the fruit of the womb? %%% N'obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri: n'ayogera nti Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma ebibala eby'olubuto? 01GEN030.003 And she said, Behold my maid Bilhah, go in unto her; and she shall bear upon my knees, that I may also have children by her. %%% N'ayogera nti Laba omuzaana wange Bira, yingira gy'ali; alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye. 01GEN030.004 And she gave him Bilhah her handmaid to wife: and Jacob went in unto her. %%% N'amuwa Bira omuzaana we okumuwasa: Yakobo n'ayingira gy'ali. 01GEN030.005 And Bilhah conceived, and bare Jacob a son. %%% Bira n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. 01GEN030.006 And Rachel said, God hath judged me, and hath also heard my voice, and hath given me a son: therefore called she his name Dan. %%% Laakeeri n'ayogera nti Katonda ansalidde omusango, era ampulidde eddoboozi lyange, era ampadde omwana ow'obulenzi: kyeyava amutuuma erinnya lye Ddaani. 01GEN030.007 And Bilhah Rachel's maid conceived again, and bare Jacob a second son. %%% Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. 01GEN030.008 And Rachel said, With great wrestlings have I wrestled with my sister, and I have prevailed: and she called his name Naphtali. %%% Laakeeri n'ayogera nti Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw'amaanyi, era mmezze: n'amutuuma erinnya lye Nafutaali. 01GEN030.009 When Leah saw that she had left bearing, she took Zilpah her maid, and gave her Jacob to wife. %%% Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zirupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo okumuwasa. 01GEN030.010 And Zilpah Leah's maid bare Jacob a son. %%% Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. 01GEN030.011 And Leah said, A troop cometh: and she called his name Gad. %%% Leeya n'ayogera nti Kirungi! n'amutuuma erinnya lye Gaadi. 01GEN030.012 And Zilpah Leah's maid bare Jacob a second son. %%% Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. 01GEN030.013 And Leah said, Happy am I, for the daughters will call me blessed: and she called his name Asher. %%% Leeya n'ayogera nti Ndabye omukisa! kubanga abawala banampitanga wa mukisa: n'amutuuma erinnya lye Asezi. 01GEN030.014 And Reuben went in the days of wheat harvest, and found mandrakes in the field, and brought them unto his mother Leah. Then Rachel said to Leah, Give me, I pray thee, of thy son's mandrakes. %%% Lewubeeni n'agenda mu nnaku mwe baali bakungulira eŋŋaano, n'alaba amadudayimu mu nnimiro, n'agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n'amugamba Leeya nti Mpa, nkwegayiridde, ku madudayimu ag'omwana wo. 01GEN030.015 And she said unto her, Is it a small matter that thou hast taken my husband? and wouldest thou take away my son's mandrakes also? And Rachel said, Therefore he shall lie with thee to night for thy son's mandrakes. %%% N'amugamba ye nti Kigambo kitono okunziyako baze? era oyagala okunziyako n'amadudayimu ag'omwana wange? Laakeeri n'amugamba nti Kyanaava asula naawe ekiro kino olw'amadudayimu ag'omwana wo. 01GEN030.016 And Jacob came out of the field in the evening, and Leah went out to meet him, and said, Thou must come in unto me; for surely I have hired thee with my son's mandrakes. And he lay with her that night. %%% Yakobo n'ava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'ayogera nti Kikugwanira okuyingira gye ndi; kubanga mazima nkuweeredde amadudayimu ag'omwana wange. N'asula naye ekiro ekyo. 01GEN030.017 And God hearkened unto Leah, and she conceived, and bare Jacob the fifth son. %%% Katonda n'awulira Leeya, n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okutaano. 01GEN030.018 And Leah said, God hath given me my hire, because I have given my maiden to my husband: and she called his name Issachar. %%% Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange: n'amutuuma erinnya lye Isakaali. 01GEN030.019 And Leah conceived again, and bare Jacob the sixth son. %%% Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga. 01GEN030.020 And Leah said, God hath endued me with a good dowry; now will my husband dwell with me, because I have born him six sons: and she called his name Zebulun. %%% Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze anaatuulanga nange kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga: n'amutuuma erinnya lye Zebbulooni. 01GEN030.021 And afterwards she bare a daughter, and called her name Dinah. %%% Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma arinnya Dina. 01GEN030.022 And God remembered Rachel, and God hearkened to her, and opened her womb. %%% Katonda n'ajjukira Laakeeri, Katonda n'amuwulira, n'aggula olubuto lwe. 01GEN030.023 And she conceived, and bare a son; and said, God hath taken away my reproach: %%% N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Katonda anziyeeko okuvumibwa kwange: 01GEN030.024 And she called his name Joseph; and said, The LORD shall add to me another son. %%% n'amutuuma erinnya lye Yusufu, ng'ayogera nti Mukama annyongereko omwana omulala ow'obulenzi. 01GEN030.025 And it came to pass, when Rachel had born Joseph, that Jacob said unto Laban, Send me away, that I may go unto mine own place, and to my country. %%% Awo olwatuuka, Laakeeri bwe yamala okuzaala Yusufu, Yakobo n'agamba Labbaani nti Nsindika ŋŋende mu kifo ky'ewaffe, era mu nsi ey'ewaffe. 01GEN030.026 Give me my wives and my children, for whom I have served thee, and let me go: for thou knowest my service which I have done thee. %%% Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, nneegendere: kubanga omanyi okuweereza kwange kwe nnakuweerezanga. 01GEN030.027 And Laban said unto him, I pray thee, if I have found favour in thine eyes, tarry: for I have learned by experience that the LORD hath blessed me for thy sake. %%% Labbaani n'amugamba nti Kaakano obanga ndabye ekisa mu maaso go, beera wano: kubanga nfumiitirizza nga Mukama yampa omukisa ku bubwo. 01GEN030.028 And he said, Appoint me thy wages, and I will give it. %%% N'ayogera nti Nsalira empeera yo, nange naagiwanga. 01GEN030.029 And he said unto him, Thou knowest how I have served thee, and how thy cattle was with me. %%% N'amugamba nti Omanyi bwe nnakuweerezanga, era ebisibo byo bwe byali nange. 01GEN030.030 For it was little which thou hadst before I came, and it is now increased unto a multitude; and the LORD hath blessed thee since my coming: and now when shall I provide for mine own house also? %%% Kubanga bye walina nga sinnajja bitono, era byeyongedde okuba ebingi; era Mukama akuwadde omukisa gye nnakyukiranga yonna: ne kaakano ndifuna ddi eby'ennyumba yange nze era? 01GEN030.031 And he said, What shall I give thee? And Jacob said, Thou shalt not give me any thing: if thou wilt do this thing for me, I will again feed and keep thy flock. %%% N'ayogera nti Naakuwa ki? Yakobo n'ayogera nti Toliiko ky'onompa: bw'olinkolera kino, naalundanga nate ekisibo kyo, naakikuumanga. 01GEN030.032 I will pass through all thy flock to day, removing from thence all the speckled and spotted cattle, and all the brown cattle among the sheep, and the spotted and speckled among the goats: and of such shall be my hire. %%% Naayita leero mu kisibo kyo kyonna, nga nziyamu buli eya bujagijagi n'eya bitanga, na buli nzirugavu mu ndiga, n'eza bitanga n'eza bujagijagi mu mbuzi: era y'eneebanga empeera yange. 01GEN030.033 So shall my righteousness answer for me in time to come, when it shall come for my hire before thy face: every one that is not speckled and spotted among the goats, and brown among the sheep, that shall be counted stolen with me. %%% Bwe butyo obutuukirivu bwange bulimpolereza oluvannyuma, bw'olijja olw'empeera yange eri mu maaso go: buli eteri ya bujagijagi oba eya bitanga mu mbuzi, oba nzirugavu mu ndiga, eyo bw'erirabika nange eribalibwa nga nzibe. 01GEN030.034 And Laban said, Behold, I would it might be according to thy word. %%% Labbaani n'ayogera nti Laba, nandyagadde kibeere ng'ekigambo kyo bwe kiri. 01GEN030.035 And he removed that day the he goats that were ringstraked and spotted, and all the she goats that were speckled and spotted, and every one that had some white in it, and all the brown among the sheep, and gave them into the hand of his sons. %%% N'aggyamu ku lunaku olwo embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, buli eyaliko ebbala ejjeru, n'enzirugaw zonna mu ndiga, n'aziwa mu mukono gw'abaana be; 01GEN030.036 And he set three days' journey betwixt himself and Jacob: and Jacob fed the rest of Laban's flocks. %%% n'assaawo olugendo lwa nnaku ssatu wakati we ne Yakobo; Yakobo n'alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo. 01GEN030.037 And Jacob took him rods of green poplar, and of the hazel and chestnut tree; and pilled white strakes in them, and made the white appear which was in the rods. %%% Yakobo n'addira obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako enguudo ezitukula, n'alabisa obutukuvu obwali ku buti. 01GEN030.038 And he set the rods which he had pilled before the flocks in the gutters in the watering troughs when the flocks came to drink, that they should conceive when they came to drink. %%% N'asimba obuti bw'asasambudde mu maaso g'ebisibo ku mmanvu mu byesero eby'okunywesezaamu ebisibo we byajja okunywa; ne ziwaka amawako bwe zajja okunywa. 01GEN030.039 And the flocks conceived before the rods, and brought forth cattle ringstraked, speckled, and spotted. %%% Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga n'ezabujagijagi n'ezabitanga. 01GEN030.040 And Jacob did separate the lambs, and set the faces of the flocks toward the ringstraked, and all the brown in the flock of Laban; and he put his own flocks by themselves, and put them not unto Laban's cattle. %%% Yakobo n'ayawula mu baana, n'atunuza amaaso g'ekisibo eri aba biwuuga, n'eri abaddugavu bonna ab'omu kisibo kya Labbaani; n'ayawulako ebisibo bye, n'atabigatta n'ekisibo kya Labbaani. 01GEN030.041 And it came to pass, whensoever the stronger cattle did conceive, that Jacob laid the rods before the eyes of the cattle in the gutters, that they might conceive among the rods. %%% Awo olwatuuka ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zaawakanga, Yakobo n'ateeka obuti mu maaso g'ekisibo mu byesero, ziwakire awali obuti; 01GEN030.042 But when the cattle were feeble, he put them not in: so the feebler were Laban's, and the stronger Jacob's. %%% naye ekisibo bwe kyabanga ekibi, n'atabussangawo; bwe zityo embi ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi nga ze za Yakobo. 01GEN030.043 And the man increased exceedingly, and had much cattle, and maidservants, and menservants, and camels, and asses. %%% Omusajja ne yeeyongera nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi. 01GEN031.001 And he heard the words of Laban's sons, saying, Jacob hath taken away all that was our father's; and of that which was our father's hath he gotten all this glory. %%% N'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti Yakobo byonna ebyali ebya kitaffe abimuggyeeko; era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde ekitiibwa ekyo kyonna. 01GEN031.002 And Jacob beheld the countenance of Laban, and, behold, it was not toward him as before. %%% Yakobo n'alaba amaaso ga Labbaani, era laba, nga tegakyafaanana gy'ali ng'olubereberye. 01GEN031.003 And the LORD said unto Jacob, Return unto the land of thy fathers, and to thy kindred; and I will be with thee. %%% Mukama n'agamba Yakobo nti Ddayo mu nsi ya bajjajja bo, era eri baganda bo; nange naabeeranga wamu naawe. 01GEN031.004 And Jacob sent and called Rachel and Leah to the field unto his flock, %%% Yakobo n'atuma n'ayita Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye, 01GEN031.005 And said unto them, I see your father's countenance, that it is not toward me as before; but the God of my father hath been with me. %%% n'abagamba nti Ndabye amaaso ga kitammwe nga tegakyafaanana gye ndi ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange yabeeranga nange. 01GEN031.006 And ye know that with all my power I have served your father. %%% Era mumanyi nga naweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna. 01GEN031.007 And your father hath deceived me, and changed my wages ten times; but God suffered him not to hurt me. %%% Era kitammwe yannimba, n'awaanyisanga empeera yange emirundi kkumi; naye Katonda teyamuganya kunkola bubi. 01GEN031.008 If he said thus, The speckled shall be thy wages; then all the cattle bare speckled: and if he said thus, The ringstraked shall be thy hire; then bare all the cattle ringstraked. %%% Bwe yayogeranga bw'ati nti Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi: era bwe yayogeranga bw'ati nti Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga. 01GEN031.009 Thus God hath taken away the cattle of your father, and given them to me. %%% Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako n'aziwa nze. 01GEN031.010 And it came to pass at the time that the cattle conceived, that I lifted up mine eyes, and saw in a dream, and, behold, the rams which leaped upon the cattle were ringstraked, speckled, and grisled. %%% Awo olwatuuka mu biro ekisibo bwe kyawaka amawako, ne nnyimusa amaaso gange, ne ndabira mu kirooto, era, laba, embuzi ennume ezaalinnyira ekisibo zaali za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo. 01GEN031.011 And the angel of God spake unto me in a dream, saying, Jacob: And I said, Here am I. %%% Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti Yakobo: ne njogera nti Nze nzuuno. 01GEN031.012 And he said, Lift up now thine eyes, and see, all the rams which leap upon the cattle are ringstraked, speckled, and grisled: for I have seen all that Laban doeth unto thee. %%% N'ayogera nti Yimusa kaakaao amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo: kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukolera. 01GEN031.013 I am the God of Bethel, where thou anointedst the pillar, and where thou vowedst a vow unto me: now arise, get thee out from this land, and return unto the land of thy kindred. %%% Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo: kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu. 01GEN031.014 And Rachel and Leah answered and said unto him, Is there yet any portion or inheritance for us in our father's house? %%% Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti Tukyalina omugabo oba obusika mu nnyumba ya kitaffe? 01GEN031.015 Are we not counted of him strangers? for he hath sold us, and hath quite devoured also our money. %%% Tetubalibwa nga bannaggwanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala. 01GEN031.016 For all the riches which God hath taken from our father, that is ours, and our children's: now then, whatsoever God hath said unto thee, do. %%% Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole. 01GEN031.017 Then Jacob rose up, and set his sons and his wives upon camels; %%% Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira; 01GEN031.018 And he carried away all his cattle, and all his goods which he had gotten, the cattle of his getting, which he had gotten in Padanaram, for to go to Isaac his father in the land of Canaan. %%% n'atwala naye ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yali akuŋŋaanyizza, ebisibo bye yali afunye, bye yakuŋŋaanyiza mu Padanalaamu, agende eri Isaaka kitaawe mu nsi ya Kanani. 01GEN031.019 And Laban went to shear his sheep: and Rachel had stolen the images that were her father's. %%% Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze: Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe. 01GEN031.020 And Jacob stole away unawares to Laban the Syrian, in that he told him not that he fled. %%% Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuuIira ng'adduka. 01GEN031.021 So he fled with all that he had; and he rose up, and passed over the river, and set his face toward the mount Gilead. %%% Bw'atyo n'adduka ne byonna bye yalina; n'agolokoka n'awunguka omugga, n'akyusa amaaso ge eri olusozi olwa Gireyaadi. 01GEN031.022 And it was told Laban on the third day that Jacob was fled. %%% Ne babuulira Labbaani ku lunaku olw'okusatu nga Yakobo yadduka. 01GEN031.023 And he took his brethren with him, and pursued after him seven days' journey; and they overtook him in the mount Gilead. %%% N'atwala naye baganda be, n’amugoberera olugendo lwa nnaku musaavu; n'amutuukako ku lusozi Gireyaadi. 01GEN031.024 And God came to Laban the Syrian in a dream by night, and said unto him, Take heed that thou speak not to Jacob either good or bad. %%% Katonda n'ajjira Labbaani Omusuuli mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. 01GEN031.025 Then Laban overtook Jacob. Now Jacob had pitched his tent in the mount: and Laban with his brethren pitched in the mount of Gilead. %%% Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye ku lusozi; ne Labbaani ne baganda be ne basimba ku lusozi Gireyaadi. 01GEN031.026 And Laban said to Jacob, What hast thou done, that thou hast stolen away unawares to me, and carried away my daughters, as captives taken with the sword? %%% Labbaani n'agamba Yakobo nti Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala? 01GEN031.027 Wherefore didst thou flee away secretly, and steal away from me; and didst not tell me, that I might have sent thee away with mirth, and with songs, with tabret, and with harp? %%% Kiki ekyakuddusa ekyama ng'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga; 01GEN031.028 And hast not suffered me to kiss my sons and my daughters? thou hast now done foolishly in so doing. %%% n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? kaakano okoze kya busirusiru. 01GEN031.029 It is in the power of my hand to do you hurt: but the God of your father spake unto me yesternight, saying, Take thou heed that thou speak not to Jacob either good or bad. %%% Kiri mu buyinza bw'omukono gwange okukukola obubi: naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro, nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. 01GEN031.030 And now, though thou wouldest needs be gone, because thou sore longedst after thy father's house, yet wherefore hast thou stolen my gods? %%% Ne kaakano oyagala nnyo okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo, (naye) kyewava obba bakatonda bange kiki? 01GEN031.031 And Jacob answered and said to Laban, Because I was afraid: for I said, Peradventure thou wouldest take by force thy daughters from me. %%% Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Kubanga natya: kubanga nayogera nti Oleme okunziyako bawala bo olw'empaka. 01GEN031.032 With whomsoever thou findest thy gods, let him not live: before our brethren discern thou what is thine with me, and take it to thee. For Jacob knew not that Rachel had stolen them. %%% Buli gw'onoolaba ng'alina bakatoada bo, taabe mulamu: mu maaso ga baganda baffe yawulamu ebibyo ebiri ewange, obyetwalire. Kubanga Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri ye yababba. 01GEN031.033 And Laban went into Jacob's tent, and into Leah's tent, and into the two maidservants' tents; but he found them not. Then went he out of Leah's tent, and entered into Rachel's tent. %%% Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri. 01GEN031.034 Now Rachel had taken the images, and put them in the camel's furniture, and sat upon them. And Laban searched all the tent, but found them not. %%% Laakeeri yali atutte baterafi, n'abassa mu matandiiko g'eŋŋamira, n'abatuulako. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba. 01GEN031.035 And she said to her father, Let it not displease my lord that I cannot rise up before thee; for the custom of women is upon me. And he searched, but found not the images. %%% N'agamba kitaawe nti Mukama wange aleme okusunguwala kubanga siyinza kukuyimirira w'oli kubanga ndi mu mpisa y'abakazi. N'anoonya, naye n'atalaba baterafi. 01GEN031.036 And Jacob was wroth, and chode with Laban: and Jacob answered and said to Laban, What is my trespass? what is my sin, that thou hast so hotly pursued after me? %%% Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani: Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikungoberesezza embiro? 01GEN031.037 Whereas thou hast searched all my stuff, what hast thou found of all thy household stuff? set it here before my brethren and thy brethren, that they may judge betwixt us both. %%% Kubanga oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabye ku bintu byonna eby'omu nnyumba yo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango fembi. 01GEN031.038 This twenty years have I been with thee; thy ewes and thy she goats have not cast their young, and the rams of thy flock have I not eaten. %%% Emyaka egyo abiri nabeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezisowolanga, n'ennume ez'omu kisibo kyo siziryanga. 01GEN031.039 That which was torn of beasts I brought not unto thee; I bare the loss of it; of my hand didst thou require it, whether stolen by day, or stolen by night. %%% Eyataagulwanga ensolo saakuleeteranga; nze nnafiirwanga eyo; wagivunaananga mu mukono gwange, obanga yabbibwanga misana oba yabbibwanga kiro. 01GEN031.040 Thus I was; in the day the drought consumed me, and the frost by night; and my sleep departed from mine eyes. %%% Bwe nnaabeeranga bwe ntyo; emisana omusana gwanzigwerangako, n'ekiro empewo; n'otulo twambulanga mu maaso gange. 01GEN031.041 Thus have I been twenty years in thy house; I served thee fourteen years for thy two daughters, and six years for thy cattle: and thou hast changed my wages ten times. %%% Emyaka egyo abiri nabeeranga mu nnyumba yo; nakuweererezanga emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'ekisibo kyo; naawe wawaanyisanga empeera yange emirundi kkumi. 01GEN031.042 Except the God of my father, the God of Abraham, and the fear of Isaac, had been with me, surely thou hadst sent me away now empty. God hath seen mine affliction and the labour of my hands, and rebuked thee yesternight. %%% Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, n'akujunga ekiro. 01GEN031.043 And Laban answered and said unto Jacob, These daughters are my daughters, and these children are my children, and these cattle are my cattle, and all that thou seest is mine: and what can I do this day unto these my daughters, or unto their children which they have born? %%% Labbaani n'addamu n'agamba Yakobo nti Abawala be bawala bange, n'abaana be baana bange, n'ebisibo by'ebisibo byange, ne byonna by'olaba bye byange: ne leero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba baana baabwe be baazaala? 01GEN031.044 Now therefore come thou, let us make a covenant, I and thou; and let it be for a witness between me and thee. %%% Kale nno kaakano, tulagaane endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa eri nze naawe. 01GEN031.045 And Jacob took a stone, and set it up for a pillar. %%% Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba okuba empagi. 01GEN031.046 And Jacob said unto his brethren, Gather stones; and they took stones, and made an heap: and they did eat there upon the heap. %%% Yakobo n'agamba baganda be nti Mukuŋŋaanye amayinja; ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu: ne baliira awo awali entuumu. 01GEN031.047 And Laban called it Jegarsahadutha: but Jacob called it Galeed. %%% Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa: naye Yakobo n'agituuma Galeedi. 01GEN031.048 And Laban said, This heap is a witness between me and thee this day. Therefore was the name of it called Galeed; %%% Labbaani n'ayogera nti Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero. Erinnya lyayo kyeryava libeera Galeedi: 01GEN031.049 And Mizpah; for he said, The LORD watch between me and thee, when we are absent one from another. %%% era Mizupa, kubanga yayogera nti Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana. 01GEN031.050 If thou shalt afflict my daughters, or if thou shalt take other wives beside my daughters, no man is with us; see, God is witness betwixt me and thee. %%% Bw'onoobonyaabonyanga abaana bange, era bw'onoowasanga abalala awali abaana bange, tewali muntu ali naffe; laba, Katonda ye mujulirwa wakati wange naawe. 01GEN031.051 And Laban said to Jacob, Behold this heap, and behold this pillar, which I have cast betwixt me and thee: %%% Labbaani n'agamba Yakobo nti Laba entuumu eno, era laba n'empagi eno, gye nsimbye wakati wange naawe. 01GEN031.052 This heap be witness, and this pillar be witness, that I will not pass over this heap to thee, and that thou shalt not pass over this heap and this pillar unto me, for harm. %%% Entuumu eno eneebeeranga omujulirwa, n'empagi ebeerenga omujulirwa, nga nze siriyita ku ntuumu eno okugenda gy'oli, era nga naawe toliyita ku ntuumu eno n'empagi eno okujja gye ndi, okukola obubi. 01GEN031.053 The God of Abraham, and the God of Nahor, the God of their father, judge betwixt us. And Jacob sware by the fear of his father Isaac. %%% Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe. Yakobo n'alayira Entiisa ya kitaawe Isaaka. 01GEN031.054 Then Jacob offered sacrifice upon the mount, and called his brethren to eat bread: and they did eat bread, and tarried all night in the mount. %%% Yakobo n'aweerayo saddaaka ku lusozi, n'ayita baganda be okulya emmere: ne balya emmere, ne babeera ku lusozi ne bakeesa obudde. 01GEN031.055 And early in the morning Laban rose up, and kissed his sons and his daughters, and blessed them: and Laban departed, and returned unto his place. %%% Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera batabani be ne bawala be n'abasabira omukisa: Labbaani n'agenda, n'addayo mu kifo kye. 01GEN032.001 And Jacob went on his way, and the angels of God met him. %%% Yakobo ne yeegendera, ne bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 01GEN032.002 And when Jacob saw them, he said, This is God's host: and he called the name of that place Mahanaim. %%% Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti Lino lye ggye lya Katonda: n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu. 01GEN032.003 And Jacob sent messengers before him to Esau his brother unto the land of Seir, the country of Edom. %%% Yakobo n'atuma ababaka okumukulembera eri Esawu muganda we mu nsi ya Seyiri, ye nnimiro ya Edomu. 01GEN032.004 And he commanded them, saying, Thus shall ye speak unto my lord Esau; Thy servant Jacob saith thus, I have sojourned with Laban, and stayed there until now: %%% N'abalagira ng'ayogera nti Bwe muti bwe muligamba mukama wange Esawu; nti Bw'ati bw'ayogera omuddu wo Yakobo nti Natuulanga ne Labbaani, ne mbeerayo okutuusa kaakano: 01GEN032.005 And I have oxen, and asses, flocks, and menservants, and womenservants: and I have sent to tell my lord, that I may find grace in thy sight. %%% era nnina ente n'endogoyi, n'ebisibo, n'abaddu n'abazaana: era ntumye okubuulira mukama wange, ndabe ekisa mu maaso go. 01GEN032.006 And the messengers returned to Jacob, saying, We came to thy brother Esau, and also he cometh to meet thee, and four hundred men with him. %%% Ababaka ne bakomawo eri Yakobo nga boogera nti Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, n'abasajja bina wamu naye. 01GEN032.007 Then Jacob was greatly afraid and distressed: and he divided the people that was with him, and the flocks, and herds, and the camels, into two bands; %%% Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira: n'ayawulamu abantu abaali naye, n'ebisibo, n'ente, n'eŋŋamira, okuba ebibiina bibiri; 01GEN032.008 And said, If Esau come to the one company, and smite it, then the other company which is left shall escape. %%% n'ayogera nti Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona. 01GEN032.009 And Jacob said, O God of my father Abraham, and God of my father Isaac, the LORD which saidst unto me, Return unto thy country, and to thy kindred, and I will deal well with thee: %%% Yakobo n'ayogera nti Ai Katonda wa jjajja wange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ai Mukama, eyaŋŋamba nti Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange naakukolanga bulungi: 01GEN032.010 I am not worthy of the least of all the mercies, and of all the truth, which thou hast shewed unto thy servant; for with my staff I passed over this Jordan; and now I am become two bands. %%% sisaanira (newakubadde) akatono mu kusaasira kwonna, n'amazima gonna, bye wagiriranga omuddu wo; kubanga nawunguka Yoludaani guno nga nnina muggo gwokka; ne kaakano nfuuse ebibiina bibiri. 01GEN032.011 Deliver me, I pray thee, from the hand of my brother, from the hand of Esau: for I fear him, lest he will come and smite me, and the mother with the children. %%% Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya, aleme okujja okunzita, ne bannyaabwe n'abaana baabwe. 01GEN032.012 And thou saidst, I will surely do thee good, and make thy seed as the sand of the sea, which cannot be numbered for multitude. %%% Naawe wayogera nti Siiremenga kukukola bulungi, era naafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi. 01GEN032.013 And he lodged there that same night; and took of that which came to his hand a present for Esau his brother; %%% N'asula awo ekiro ekyo: n'atoola ku ebyo bye yali nabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we; 01GEN032.014 Two hundred she goats, and twenty he goats, two hundred ewes, and twenty rams, %%% embuzi enkazi bibiri n'ennume abiri; endiga enkazi bibiri n'ennume abiri; 01GEN032.015 Thirty milch camels with their colts, forty kine, and ten bulls, twenty she asses, and ten foals. %%% eŋŋamira eziramulwa asatu n'abaana baazo; ente enkazi ana n'eza seddume kkumi, endogoyi enkazi abiri n'abaana baazo kkumi. 01GEN032.016 And he delivered them into the hand of his servants, every drove by themselves; and said unto his servants, Pass over before me, and put a space betwixt drove and drove. %%% N'abiwa mu mukono gw'abbadu be, buli kisibo kyokka; n'agamba abaddu be nti Munkulembere musomoke, musseewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo. 01GEN032.017 And he commanded the foremost, saying, When Esau my brother meeteth thee, and asketh thee, saying, Whose art thou? and whither goest thou? and whose are these before thee? %%% N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti Oli w'ani? era ogenda wa? n'ebyo ebiri mu maaso go by'ani? 01GEN032.018 Then thou shalt say, They be thy servant Jacob's; it is a present sent unto my lord Esau: and, behold, also he is behind us. %%% n'olyoka ogamba nti Bya muddu wo Yakobo; kye kirabo ekiweerezebbwa mukama wange Esawu; era, laba, naye ali nnyuma waffe. 01GEN032.019 And so commanded he the second, and the third, and all that followed the droves, saying, On this manner shall ye speak unto Esau, when ye find him. %%% Era n'alagira n'ow'okubiri n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamulaba. 01GEN032.020 And say ye moreover, Behold, thy servant Jacob is behind us. For he said, I will appease him with the present that goeth before me, and afterward I will see his face; peradventure he will accept of me. %%% Era munaayogera nti Era, laba, omuddu wo Yakobo ali nnyuma waffe: Kubanga yayogera nti Naamuwooyawooya n'ekirabo ekinankulembera ne ndyoka mmulaba amaaso ge; mpozzi anannyaniriza. 01GEN032.021 So went the present over before him: and himself lodged that night in the company. %%% Awo ekirabo ne kimukulembera ne kisomoka: naye ye yennyini n'asula ekiro ekyo wamu n'ekibiina. 01GEN032.022 And he rose up that night, and took his two wives, and his two womenservants, and his eleven sons, and passed over the ford Jabbok. %%% N'agolokoka ekiro ekyo, n’addira bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomokera mu musomoko gw'e Yaboki. 01GEN032.023 And he took them, and sent them over the brook, and sent over that he had. %%% N'abatwala, n'abasomosa omugga, n'asomosa byonna bye yalina. 01GEN032.024 And Jacob was left alone; and there wrestled a man with him until the breaking of the day. %%% Yakobo n'asigalayo yekka; omusajja n'ameggana naye okutuusa emmambya bwe yasala. 01GEN032.025 And when he saw that he prevailed not against him, he touched the hollow of his thigh; and the hollow of Jacob's thigh was out of joint, as he wrestled with him. %%% Era bwe yalaba nga tajja kumumegga, n'akoma ku mbalakaso ye; embalakaso ya Yakobo ne yeereega, ng'ameggana naye. 01GEN032.026 And he said, Let me go, for the day breaketh. And he said, I will not let thee go, except thou bless me. %%% N'ayogera nti Nta, kubanga emmambya esala. N'ayogera nti Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa. 01GEN032.027 And he said unto him, What is thy name? And he said, Jacob. %%% N'amugamba nti Erinnya lyo ggwe ani? N'ayogera nti Yakobo. 01GEN032.028 And he said, Thy name shall be called no more Jacob, but Israel: for as a prince hast thou power with God and with men, and hast prevailed. %%% N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga Yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n’abantu, era osinze. 01GEN032.029 And Jacob asked him, and said, Tell me, I pray thee, thy name. And he said, Wherefore is it that thou dost ask after my name? And he blessed him there. %%% Yakobo n'amubuuza n'ayogera nti Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo. N'ayogera nti Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange? N'amuweera eyo omukisa. 01GEN032.030 And Jacob called the name of the place Peniel: for I have seen God face to face, and my life is preserved. %%% Yakobo n'atuuma ekifo erinnya lyakyo Penieri: kubanga ndabagaaye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwange buwonye. 01GEN032.031 And as he passed over Penuel the sun rose upon him, and he halted upon his thigh. %%% Enjuba n'evaayo n'emwakako ng'awunguka Penueri, n'awenyera olw'ekisambi kye. 01GEN032.032 Therefore the children of Israel eat not of the sinew which shrank, which is upon the hollow of the thigh, unto this day: because he touched the hollow of Jacob's thigh in the sinew that shrank. %%% Abaana ba Isiraeri kyebava balema okulya ekinywa ky'ekisambi ekiri ku mbalakaso, okutuusa leero: kubanga yakoma ku mbalakaso ya Yakobo mu kinywa ky'ekisambi. 01GEN033.001 And Jacob lifted up his eyes, and looked, and, behold, Esau came, and with him four hundred men. And he divided the children unto Leah, and unto Rachel, and unto the two handmaids. %%% Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, Esawu ng'ajja, n'abasajja bina wamu naye. N'agabira abaana Leeya ne Laakeeri n'abazaana bombi. 01GEN033.002 And he put the handmaids and their children foremost, and Leah and her children after, and Rachel and Joseph hindermost. %%% N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'aviisaako ennyuma Laakeeri ne Yusufu. 01GEN033.003 And he passed over before them, and bowed himself to the ground seven times, until he came near to his brother. %%% Naye ye yennyini n'akulembera mu maaso gaabwe, n'avuunama emirundi musanvu, okutuusa bwe yasemberera muganda we. 01GEN033.004 And Esau ran to meet him, and embraced him, and fell on his neck, and kissed him: and they wept.%%% Esawu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera: ne bakaaba amaziga. 01GEN033.005 And he lifted up his eyes, and saw the women and the children; and said, Who are those with thee? And he said, The children which God hath graciously given thy servant. %%% N'ayimusa amaaso ge, n’alaba abakazi n’abaana; n'ayogera nti Baani bano abali naawe? N'ayogera nti Abo be baana Katonda be yawa omuddu wo olw'ekisa. 01GEN033.006 Then the handmaidens came near, they and their children, and they bowed themselves. %%% Abazaana ne balyoka basembera, bo n'abaana baabwe, ne bavuunama. 01GEN033.007 And Leah also with her children came near, and bowed themselves: and after came Joseph near and Rachel, and they bowed themselves. %%% Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama: Yusufu ne Laakeeri ne balyoka basembera, ne bavunama. 01GEN033.008 And he said, What meanest thou by all this drove which I met? And he said, These are to find grace in the sight of my lord. %%% N'ayogera nti Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo kiki? N'ayogera nti Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange. 01GEN033.009 And Esau said, I have enough, my brother; keep that thou hast unto thyself. %%% Esawu n'ayogera nti Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo. 01GEN033.010 Jacob said, Nay, I pray thee, if now I have found grace in thy sight, then receive my present at my hand: for therefore I have seen thy face, as though I had seen the face of God, and thou wast pleased with me. %%% Yakobo n'ayogera nti Nedda, nkwegayiridde, kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange: kubanga ndabye amaaso go, ng'omuntu bw'alaba amaaso ga Katonda, n'onsanyukira. 01GEN033.011 Take, I pray thee, my blessing that is brought to thee; because God hath dealt graciously with me, and because I have enough. And he urged him, and he took it. %%% Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala. N'amwegayirira, n'akitwala. 01GEN033.012 And he said, Let us take our journey, and let us go, and I will go before thee. %%% N'ayogera nti Tukwate ekkubo tu01GENde, nange naakukulembera. 01GEN033.013 And he said unto him, My lord knoweth that the children are tender, and the flocks and herds with young are with me: and if men should overdrive them one day, all the flock will die. %%% N'amugamba nti Mukama wange amanyi ng'abaana tebalina maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange ziyonsa: era bwe balibigoba ennyo ku lunaku olumu, ebisibo byonna birifa. 01GEN033.014 Let my lord, I pray thee, pass over before his servant: and I will lead on softly, according as the cattle that goeth before me and the children be able to endure, until I come unto my lord unto Seir. %%% Nkwegayiridde, mukama wange akulembere omuddu we: nange naa01GENda mpola, ng'okutambula kw'ensolo eziri mu maaso gange era ng'okutambula kw'abaana bwe kuli, ntuuke awali mukama wange mu Seyiri. 01GEN033.015 And Esau said, Let me now leave with thee some of the folk that are with me. And he said, What needeth it? let me find grace in the sight of my lord. %%% Esawu n'ayogera nti Ka nkulekere kaakano ku bantu abali nange. N'ayogera nti Si nsonga: ndabe ekisa mu maaso ga mukama wange. 01GEN033.016 So Esau returned that day on his way unto Seir. %%% Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo ng'a01GENda e Seyiri. 01GEN033.017 And Jacob journeyed to Succoth, and built him an house, and made booths for his cattle: therefore the name of the place is called Succoth. %%% Yakobo n'atambula n'a01GENda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo kyeriva liyitibwa Sukkosi. 01GEN033.018 And Jacob came to Shalem, a city of Shechem, which is in the land of Canaan, when he came from Padanaram; and pitched his tent before the city. %%% Yakobo n'atuuka mirembe mu kibuga kya Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, bwe yava mu Padanalaamu; n'asiisira mu maaso g'ekibuga. 01GEN033.019 And he bought a parcel of a field, where he had spread his tent, at the hand of the children of Hamor, Shechem's father, for an hundred pieces of money. %%% N'agula ekibanja, gye yasimba eweema ye, mu mukono gw'abaana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, n'ebitundu by'effeeza kikumi. 01GEN033.020 And he erected there an altar, and called it EleloheIsrael. %%% N'asimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri. 01GEN034.001 And Dinah the daughter of Leah, which she bare unto Jacob, went out to see the daughters of the land. %%% Dina omwana wa Leeya, gwe yazaalira Yakobo, n'afuluma n'agenda okulaba abawala ab'omu nsi. 01GEN034.002 And when Shechem the son of Hamor the Hivite, prince of the country, saw her, he took her, and lay with her, and defiled her. %%% Sekemu omwana wa Kamoli Omukiivi, omukulu w'ensi, n'amulaba; n'amutwala, n'asula naye, n'amwata. 01GEN034.003 And his soul clave unto Dinah the daughter of Jacob, and he loved the damsel, and spake kindly unto the damsel. %%% N’obulamu bwe ne bwegatta ne Dina omwana wa Yakobo, n’ayagala omuwala oyo, n’ayogera n’omuwala n’ekisa. 01GEN034.004 And Shechem spake unto his father Hamor, saying, Get me this damsel to wife. %%% Sekemu n'agamba kitaawe Kamoli nti Mpasiza omuwala oyo. 01GEN034.005 And Jacob heard that he had defiled Dinah his daughter: now his sons were with his cattle in the field: and Jacob held his peace until they were come. %%% Yakobo n'awulira nga yagwagwawaza Dina omwana we; n'abaana be baali n'ensolo ze mu ddundiro: Yakobo n'asirika okutuusa lwe badda. 01GEN034.006 And Hamor the father of Shechem went out unto Jacob to commune with him. %%% Kamoli kitaawe wa Sekemu n'afuluma eri Yakobo okuteesa naye. 01GEN034.007 And the sons of Jacob came out of the field when they heard it: and the men were grieved, and they were very wroth, because he had wrought folly in Israel in lying with Jacob's daughter; which thing ought not to be done. %%% Abaana ba Yakobo ne bava mu ddundiro ne bayingira bwe baakiwulira: abasajja ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga yali akoze eky'omuzizo mu Isiraeri bwe yasula n'omwana wa Yakobo; ekitagwanira kukola. 01GEN034.008 And Hamor communed with them, saying, The soul of my son Shechem longeth for your daughter: I pray you give her him to wife. %%% Kamoli n'ateesa nabo ng'ayogera nti Obulamu bw'omwana wange Sekemu bulumirwa omuwala wammwe: mbeegayirira mumumuwe okumuwasa. 01GEN034.009 And make ye marriages with us, and give your daughters unto us, and take our daughters unto you. %%% Era mufumbiriganwenga naffe: mutuwenga ffe abawala bammwe, era muwasenga mmwe abawala baffe. 01GEN034.010 And ye shall dwell with us: and the land shall be before you; dwell and trade ye therein, and get you possessions therein. %%% Era munaatuulanga wamu naffe: n'ensi eneebanga mu maaso gammwe; mutuulenga omwo mugulenga mwefunirenga ebintu omwo. 01GEN034.011 And Shechem said unto her father and unto her brethren, Let me find grace in your eyes, and what ye shall say unto me I will give. %%% Sekemu n'agamba kitaawe ne baganda be nti Ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kye munansalira kye nnaabawa. 01GEN034.012 Ask me never so much dowry and gift, and I will give according as ye shall say unto me: but give me the damsel to wife. %%% Eby'obuko n'ekirabo bye munansaba bwe binenkana wonna, nange naabawa bwe ntyo nga bwe munaŋŋamba: naye mumpe omuwala okumuwasa. 01GEN034.013 And the sons of Jacob answered Shechem and Hamor his father deceitfully, and said, because he had defiled Dinah their sister: %%% Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa ne boogera, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe, 01GEN034.014 And they said unto them, We cannot do this thing, to give our sister to one that is uncircumcised; for that were a reproach unto us: %%% ne babagamba nti Tetuyinza kukola kino, okumuwa mwannyinaffe atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde nsonyi gye tuli: 01GEN034.015 But in this will we consent unto you: If ye will be as we be, that every male of you be circumcised; %%% endagaano eno yokka ye ejja okubatukkirizisa: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga; 01GEN034.016 Then will we give our daughters unto you, and we will take your daughters to us, and we will dwell with you, and we will become one people. %%% ne tulyoka tubawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu. 01GEN034.017 But if ye will not hearken unto us, to be circumcised; then will we take our daughter, and we will be gone. %%% Naye bwe mutaatuwulire, okukomolebwa; olwo tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda. 01GEN034.018 And their words pleased Hamor, and Shechem Hamor's son. %%% Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli, ne Sekemu omwana wa Kamoli. 01GEN034.019 And the young man deferred not to do the thing, because he had delight in Jacob's daughter: and he was more honourable than all the house of his father. %%% Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yasanyukira omuwala wa Yakobo: era yalina ekitiibwa okusinga ennyumba yonna eya kitaawe. 01GEN034.020 And Hamor and Shechem his son came unto the gate of their city, and communed with the men of their city, saying, %%% Kamoli ne Sekemu omwana we ne bajja mu wankaaki w'ekibuga kyabwe, ne bateesa n'abasajja ab'omu kibuga kyabwe, nga boogera 01GEN034.021 These men are peaceable with us; therefore let them dwell in the land, and trade therein; for the land, behold, it is large enough for them; let us take their daughters to us for wives, and let us give them our daughters. %%% nti Abasajja abo tebaagala kulwana naffe; kale batuulenga mu nsi bagulenga omwo; kubanga, laba, ensi ngazi, eribamala; ffe tuwasenga abawala baabwe, era tubawenga bo abawala baffe, 01GEN034.022 Only herein will the men consent unto us for to dwell with us, to be one people, if every male among us be circumcised, as they are circumcised. %%% Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo ffe okutuula nabo, okufuuka eggwanga erimu, buli musajja mu ffe bw'alikomolebwa, nga bo bwe bakomolebwa. 01GEN034.023 Shall not their cattle and their substance and every beast of theirs be ours? only let us consent unto them, and they will dwell with us. %%% Ente zaabwe n'ebintu byabwe n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? naye kyokka tubakkirize, nabo banaatuulanga naffe. 01GEN034.024 And unto Hamor and unto Shechem his son hearkened all that went out of the gate of his city; and every male was circumcised, all that went out of the gate of his city. %%% Ne Kamoli ne Sekemu omwana we bonna abaavanga mu wankaaki w'ekibuga kye ne babawulira; buli musajja n'akomolebwa, buli eyavanga mu wankaaki w'ekibuga. 01GEN034.025 And it came to pass on the third day, when they were sore, that two of the sons of Jacob, Simeon and Levi, Dinah's brethren, took each man his sword, and came upon the city boldly, and slew all the males.%%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, bwe baali nga balumwa, abaana ba Yakobo ababiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne baddira buli muntu ekitala kye, ne bazinduukiriza ekibuga, ne batta abasajja bonna. 01GEN034.026 And they slew Hamor and Shechem his son with the edge of the sword, and took Dinah out of Shechem's house, and went out. %%% Ne batta Kamoli ne Sekemu omwana we n'ekitata, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu, ne bavaayo. 01GEN034.027 The sons of Jacob came upon the slain, and spoiled the city, because they had defiled their sister. %%% Abaana ba Yakobo ne babasanga nga babasse, ne banyaga ekibuga, kubanga baagwagwawaza mwannyinaabwe. 01GEN034.028 They took their sheep, and their oxen, and their asses, and that which was in the city, and that which was in the field, %%% Baanyaga endiga zaabwe n'embuzi zaabwe n'endogoyi zaabwe, n'ebyo ebyali mu kibuga, n'ebyo ebyali mu nnimiro: 01GEN034.029 And all their wealth, and all their little ones, and their wives took they captive, and spoiled even all that was in the house. %%% n'obugagga bwabwe bwonna, n'abaana baabwe bonna abato n'abakazi baabwe, ne babasiba ne babanyaga, byonna ddala ebyali mu mayumba. 01GEN034.030 And Jacob said to Simeon and Levi, Ye have troubled me to make me to stink among the inhabitants of the land, among the Canaanites and the Perizzites: and I being few in number, they shall gather themselves together against me, and slay me; and I shall be destroyed, I and my house. %%% Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti Munneeraliikirizza, okumpunyisa mu abo abatuula mu nsi, mu Bakanani ne mu Baperizi: nange, kubanga omuwendo gwange mutono, balikuŋŋaana bonna okunnumba, balinkuba: nange ndizikirizibwa, nze n'ennyumba yange. 01GEN034.031 And they said, Should he deal with our sister as with an harlot? %%% Ne boogera nti Kirungi akole mwannyinaffe ng'omwenzi? 01GEN035.001 And God said unto Jacob, Arise, go up to Bethel, and dwell there: and make there an altar unto God, that appeared unto thee when thou fleddest from the face of Esau thy brother %%% Katonda n'agamba Yakobo nti Golokoka, oyambuke e Beseri, otuule eyo: ozimbire eyo ekyoto eri Katonda, eyakulabikira bwe wadduka amaaso ga Esawu muganda wo. 01GEN035.002 Then Jacob said unto his household, and to all that were with him, Put away the strange gods that are among you, and be clean, and change your garments: %%% Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, muwaanyise ebyambalo byammwe: 01GEN035.003 And let us arise, and go up to Bethel; and I will make there an altar unto God, who answered me in the day of my distress, and was with me in the way which I went. %%% tugolokoke, twambuke e Beseri: nange ndizimbira eyo ekyoto eri Katonda, eyanziramu ku lunaku olw'okweraliikirira kwange, era eyabanga nange mu kkubo lye nnatambuliramu. 01GEN035.004 And they gave unto Jacob all the strange gods which were in their hand, and all their earrings which were in their ears; and Jacob hid them under the oak which was by Shechem. %%% Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna abaali mu mukono gwabwe, n'empeta ezaali mu matu gaabwe; Yakobo n'abikweka wansi w'omwera ogwali mu Sekemu. 01GEN035.005 And they journeyed: and the terror of God was upon the cities that were round about them, and they did not pursue after the sons of Jacob. %%% Ne batambula: n'entiisa ennyingi n'egwa ku bibuga ebyabeetooloola, ne batagoberera baana ba Yakobo. 01GEN035.006 So Jacob came to Luz, which is in the land of Canaan, that is, Bethel, he and all the people that were with him. %%% Awo Yakobo n'atuuka e Luzi, ekiri mu nsi ya Kanani (ye Beseri), ye n'abantu bonna abaali naye. 01GEN035.007 And he built there an altar, and called the place Elbethel: because there God appeared unto him, when he fled from the face of his brother. %%% N'azimbira eyo ekyoto, n'ayita ekifo Erubeseri: kubanga eyo Katonda gye yamubikkulirwa, bwe yadduka amaaso ga muganda we. 01GEN035.008 But Deborah Rebekah's nurse died, and she was buried beneath Bethel under an oak: and the name of it was called Allonbachuth. %%% Debola, omulezi wa Lebbeeka, n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera: ne bagutuuma erinnya Alooninakusi. 01GEN035.009 And God appeared unto Jacob again, when he came out of Padanaram, and blessed him. %%% Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n’amuwa omukisa. 01GEN035.010 And God said unto him, Thy name is Jacob: thy name shall not be called any more Jacob, but Israel shall be thy name: and he called his name Israel. %%% Katonda n'amugamba nti Erinnya lyo Yakobo: erinnya lyo tokyayitibwa nate Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo: n'amutuuma erinnya Isiraeri. 01GEN035.011 And God said unto him, I am God Almighty: be fruitful and multiply; a nation and a company of nations shall be of thee, and kings shall come out of thy loins; %%% Katonda n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna: oyale weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo; 01GEN035.012 And the land which I gave Abraham and Isaac, to thee I will give it, and to thy seed after thee will I give the land. %%% n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo ndiriwa ensi. 01GEN035.013 And God went up from him in the place where he talked with him. %%% Katonda n'ava gy'ali n'alinnya, mu kifo mwe yayogerera naye. 01GEN035.014 And Jacob set up a pillar in the place where he talked with him, even a pillar of stone: and he poured a drink offering thereon, and he poured oil thereon. %%% Yakobo n'asimba empagi mu kifo mwe yayogerera naye, empagi ey'amayinja: n'agifukako ekiweebwayo ekyokunywa, n'agifukako amafuta. 01GEN035.015 And Jacob called the name of the place where God spake with him, Bethel. %%% Yakobo n'atuuma ekifo Katonda mwe yayogerera naye erinnya lyakyo Beseri. 01GEN035.016 And they journeyed from Bethel; and there was but a little way to come to Ephrath: and Rachel travailed, and she had hard labour. %%% Ne bava mu Beseri ne batambula; baali babulako ekiseera batuuke e Efulasi: Laakeeri n'ayagala okuzaala, n'alumwa nnyo. 01GEN035.017 And it came to pass, when she was in hard labour, that the midwife said unto her, Fear not; thou shalt have this son also. %%% Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala. 01GEN035.018 And it came to pass, as her soul was in departing, (for she died) that she called his name Benoni: but his father called him Benjamin. %%% Awo olwatuuka, obulamu bwe bwali nga bunaatera okugenda (kubanga yafa), n'amutuuma erinnya Benoni: naye kitaawe n'amutuuma Benyamini. 01GEN035.019 And Rachel died, and was buried in the way to Ephrath, which is Bethlehem. %%% Laakeeri n'afa, ne bamuziika mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu). 01GEN035.020 And Jacob set a pillar upon her grave: that is the pillar of Rachel's grave unto this day. %%% Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge: eyo ye mpagi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero. 01GEN035.021 And Israel journeyed, and spread his tent beyond the tower of Edar. %%% Isiraeri n'atambula, n’asimba eweema ye ng'ayise ku kigo kya Ederi. 01GEN035.022 And it came to pass, when Israel dwelt in that land, that Reuben went and lay with Bilhah his father's concubine: and Israel heard it. Now the sons of Jacob were twelve: %%% Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe: Isiraeri n'akiwulirako. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri: 01GEN035.023 The sons of Leah; Reuben, Jacob's firstborn, and Simeon, and Levi, and Judah, and Issachar, and Zebulun: %%% abaana ba Leeya; Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni: 01GEN035.024 The sons of Rachel; Joseph, and Benjamin: %%% abaana ba Laakeeri; Yusufu, ne Benyamini: 01GEN035.025 And the sons of Bilhah, Rachel's handmaid; Dan, and Naphtali: %%% n'abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri; Ddaani ne Nafutaali: 01GEN035.026 And the sons of Zilpah, Leah's handmaid; Gad, and Asher: these are the sons of Jacob, which were born to him in Padanaram. %%% n'abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya; Gaadi ne Aseri: abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa mu Padanalaamu. 01GEN035.027 And Jacob came unto Isaac his father unto Mamre, unto the city of Arbah, which is Hebron, where Abraham and Isaac sojourned. %%% Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe mu Mamule, mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 01GEN035.028 And the days of Isaac were an hundred and fourscore years. %%% N'ennaku za Isaaka zaali myaka kikumi mu kinaana. 01GEN035.029 And Isaac gave up the ghost, and died, and was gathered unto his people, being old and full of days: and his sons Esau and Jacob buried him. %%% Isaaka n'ata omukka, n'afa, n'atwalibwa eri abantu be, ng'akaddiye, ng'awezezza ennaku nnyingi: Esawu ne Yakobo abaana be ne bamuziika. 01GEN036.001 Now these are the generations of Esau, who is Edom. %%% N'okuzaala kwa Esawu (ye Edomu) kwe kuno. 01GEN036.002 Esau took his wives of the daughters of Canaan; Adah the daughter of Elon the Hittite, and Aholibamah the daughter of Anah the daughter of Zibeon the Hivite; %%% Esawu yawasa ku bawala ba Kanani; Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana, omuwala wa Zibyoni Omukiivi; 01GEN036.003 And Bashemath Ishmael's daughter, sister of Nebajoth. %%% ne Basimansi omuwala wa Isimaeri, muganda wa Nebayoosi. 01GEN036.004 And Adah bare to Esau Eliphaz; and Bashemath bare Reuel; %%% Ada n'azaalira Esawu Erifaazi; ne Basimansi n'azaala Leweri: 01GEN036.005 And Aholibamah bare Jeush, and Jaalam, and Korah: these are the sons of Esau, which were born unto him in the land of Canaan. %%% ne Okolibama n'azaala Yewusi, ne Yalamu, ne Koola: abo be batabani ba Esawu, abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani. 01GEN036.006 And Esau took his wives, and his sons, and his daughters, and all the persons of his house, and his cattle, and all his beasts, and all his substance, which he had got in the land of Canaan; and went into the country from the face of his brother Jacob. %%% Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be, n'abantu bonna abaali mu nnyumba ye, n'ebisibo bye n'ensolo ze zonna, n'ebintu bye byonna, bye yakuŋŋaanyiza mu nsi ya Kanani; n'agenda mu nsi endala n'abeera wala ne muganda we Yakobo. 01GEN036.007 For their riches were more than that they might dwell together; and the land wherein they were strangers could not bear them because of their cattle. %%% Kubanga ebintu byabwe byali bingi bwe biti n'okuyinza tebaayinza kutuula wamu; n'ensi gye baatuulamu teyabayinza olw'ebisibo byabwe. 01GEN036.008 Thus dwelt Esau in mount Seir: Esau is Edom. %%% Esawu n'atuula ku lusozi Seyiri: Esawu ye Edomu. 01GEN036.009 And these are the generations of Esau the father of the Edomites in mount Seir: %%% N'olulyo lwa Esawu jjajja wa Abaedomu abaali ku lusozi Seyiri lwe luno: 01GEN036.010 These are the names of Esau's sons; Eliphaz the son of Adah the wife of Esau, Reuel the son of Bashemath the wife of Esau. %%% batabani ba Esawu amannya gaabwe ge gano: Erifaazi omwana wa Ada omukazi wa Esawu, Leweri omwana wa Basimansi omukazi wa Esawu. 01GEN036.011 And the sons of Eliphaz were Teman, Omar, Zepho, and Gatam, and Kenaz. %%% Ne batabani ba Erifaazi Temani, Omali, Zefo, ne Gatamu, ne Kenazi. 01GEN036.012 And Timna was concubine to Eliphaz Esau's son; and she bare to Eliphaz Amalek: these were the sons of Adah Esau's wife. %%% Ne Timuna yali muzaana wa Erifaazi omwana wa Esawu; n'azaalira Erifaazi Amaleki; abo be baana ba Ada omukazi wa Esawu. 01GEN036.013 And these are the sons of Reuel; Nahath, and Zerah, Shammah, and Mizzah: these were the sons of Bashemath Esau's wife. %%% N'abaana ba Leweri baabano; Nakasi, ne Zeera, Samma, ne Mizza: abo be baali abaana ba Basimansi omukazi wa Esawu. 01GEN036.014 And these were the sons of Aholibamah, the daughter of Anah the daughter of Zibeon, Esau's wife: and she bare to Esau Jeush, and Jaalam, and Korah. %%% N'abaana ba Okolibama omwana wa Ana, omwana wa Zibyoni, omukazi wa Esawu: n'azaalira Esawu Yewusi, ne Yalamu, ne Koola. 01GEN036.015 These were dukes of the sons of Esau: the sons of Eliphaz the firstborn son of Esau; duke Teman, duke Omar, duke Zepho, duke Kenaz, %%% Abaana ba Esawu abaalya obwami baabano: abaana ba Erifaazi omubereberye wa Esawu; omukungu Temani, omukungu Omali, omukungu Zefo, omukungu Kenazi, 01GEN036.016 Duke Korah, duke Gatam, and duke Amalek: these are the dukes that came of Eliphaz in the land of Edom; these were the sons of Adah. %%% omukungu Koola, omukungu Gatamu, omukungu Amaleki: abo be bakungu abaava mu Erifaazi mu nsi ya Edomu; abo be baana ba Ada. 01GEN036.017 And these are the sons of Reuel Esau's son; duke Nahath, duke Zerah, duke Shammah, duke Mizzah: these are the dukes that came of Reuel in the land of Edom; these are the sons of Bashemath Esau's wife. %%% N'abaana ba Leweri omukungu wa Esawu baabano; omukungu Nakasi, omukungu Zecra, omukungu Samma, omukungu Mizza: abo be bakungu abaava mu Leweri mu nsi ya Edomu; abo be baana ba Basimansi omukazi wa Esawu. 01GEN036.018 And these are the sons of Aholibamah Esau's wife; duke Jeush, duke Jaalam, duke Korah: these were the dukes that came of Aholibamah the daughter of Anah, Esau's wife. %%% N'abaana ba Okolibama omukazi wa Esawu baabano; omukungu Yewusi, omukungu Yalamu, omukungu Koola: abo be bakungu abaava mu Okolibama omuwala wa Ana, mukazi wa Esawu. 01GEN036.019 These are the sons of Esau, who is Edom, and these are their dukes. %%% Abo be baana ba Esawu, n'abo be bakungu baabwe: oyo ye Edomu. 01GEN036.020 These are the sons of Seir the Horite, who inhabited the land; Lotan, and Shobal, and Zibeon, and Anah, %%% Abaana ba Seyiri Omukooli, be baatuulanga mu nsi, baabano; Lotani ne Sobali ne Zibyoni ne Ana, 01GEN036.021 And Dishon, and Ezer, and Dishan: these are the dukes of the Horites, the children of Seir in the land of Edom. %%% ne Disoni ne Ezeri ne Disani: abo be baami abaava mu Bakoli, be baana ba Seyiri mu nsi ya Edomu. 01GEN036.022 And the children of Lotan were Hori and Hemam; and Lotan's sister was Timna. %%% N'abaana ba Lotani be bano Koli ne Kemamu; ne mwannyina Lotani ye Timuna. 01GEN036.023 And the children of Shobal were these; Alvan, and Manahath, and Ebal, Shepho, and Onam. %%% N'abaana ba Sobali baabano; Aluvani ne Manakasi ne Ebali, Sefo ne Onamu. 01GEN036.024 And these are the children of Zibeon; both Ajah, and Anah: this was that Anah that found the mules in the wilderness, as he fed the asses of Zibeon his father. %%% N'abaana be Zibyoni baabano; Aya ne Ana: Ana ye oyo eyalaba enzizi z'amazzi agabuguma mu ddungu, bwe yali alunda endogoyi za Zibyoni kitaawe. 01GEN036.025 And the children of Anah were these; Dishon, and Aholibamah the daughter of Anah. %%% N'abaana ba Ana baabano; Disoni ne Okolibama omuwala wa Ana. 01GEN036.026 And these are the children of Dishon; Hemdan, and Eshban, and Ithran, and Cheran. %%% N'abaana ba Disoni baabano; Kemudaani ne Esubani ne Isulani ne Kerani. 01GEN036.027 The children of Ezer are these; Bilhan, and Zaavan, and Akan. %%% Abaana ba Ezeri baabano; Birani ne Zaavani ne Akani. 01GEN036.028 The children of Dishan are these; Uz, and Aran. %%% Abaana ba Disani baabano; Uzi ne Alani. 01GEN036.029 These are the dukes that came of the Horites; duke Lotan, duke Shobal, duke Zibeon, duke Anah, %%% Abaami abaava mu Bakooli baabano; omwami Lotani, omwami Sobali, omwami Zibyoni, omwami Ana, 01GEN036.030 Duke Dishon, duke Ezer, duke Dishan: these are the dukes that came of Hori, among their dukes in the land of Seir. %%% omwami Disoni, omwami Ezeri, omwami Disani: abo be baami abaava mu Bakoli, ng'abaami baabwe bwe baali mu nsi ya Seyiri. 01GEN036.031 And these are the kings that reigned in the land of Edom, before there reigned any king over the children of Israel. %%% Ne bassekabaka abaafuga mu nsi ya Edomu, nga tewannafuga kabaka yenna abaana ba Isiraeri, baabano. 01GEN036.032 And Bela the son of Beor reigned in Edom: and the name of his city was Dinhabah. %%% Bera omwana wa Byoli n'afuga mu Edomu; n'ekibuga kye erinnya lyakyo Dinukaba. 01GEN036.033 And Bela died, and Jobab the son of Zerah of Bozrah reigned in his stead. %%% Bera n'afa, Yobabu omwana wa Zeera ow'e Bozula n'alya obwakabaka mu kifo kye. 01GEN036.034 And Jobab died, and Husham of the land of Temani reigned in his stead. %%% Yobabu n'afa, Kusamu ow'ensi ya Abatemami n'alya obwakabaka mu kifo kye. 01GEN036.035 And Husham died, and Hadad the son of Bedad, who smote Midian in the field of Moab, reigned in his stead: and the name of his city was Avith. %%% Kusamu n'afa, Kadadi omwana wa Bedadi, eyakuba Midiyaani mu nnimiro ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Avisi. 01GEN036.036 And Hadad died, and Samlah of Masrekah reigned in his stead. %%% Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'alya obwakabaka mu kifo kye. 01GEN036.037 And Samlah died, and Saul of Rehoboth by the river reigned in his stead. %%% Samula n'afa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiriraana n'omugga n'alya obwakabaka mu kifo kye. 01GEN036.038 And Saul died, and Baalhanan the son of Achbor reigned in his stead. %%% Sawuli n'afa, Baalukanani omwana wa Akubooli n'alya obwakabaka mu kifo kye. 01GEN036.039 And Baalhanan the son of Achbor died, and Hadar reigned in his stead: and the name of his city was Pau; and his wife's name was Mehetabel, the daughter of Matred, the daughter of Mezahab. %%% Baalukanani omwana wa Akubooli n'afa, Kadali n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Pawu; ne mukazi we erinnya lye Meketaberi, omwana wa Matuledi, omwana wa Mezakabu. 01GEN036.040 And these are the names of the dukes that came of Esau, according to their families, after their places, by their names; duke Timnah, duke Alvah, duke Jetheth, %%% N'amannya g'abaami abaava mu Esawu, ng'ebika byabwe, n'ebifo byabwe, n'amannya gaabwe bwe biri, gaagano; omwami Timuna, omwami Aluva, omwami Yesesi; 01GEN036.041 Duke Aholibamah, duke Elah, duke Pinon, %%% omwami Okolibama, omwami Era, omwami Pinoni; 01GEN036.042 Duke Kenaz, duke Teman, duke Mibzar, %%% omwami Kenazi, omwami Temani, omwami Mibuzali; 01GEN036.043 Duke Magdiel, duke Iram: these be the dukes of Edom, according to their habitations in the land of their possession: he is Esau the father of the Edomites. %%% omwami Magudyeri, omwami Iramu: abo be baami ba Edomu, nga bwe baatuulanga mu nsi ey'obutaka bwabwe. Oyo ye Esawu jjajja wa Abaedomu. 01GEN037.001 And Jacob dwelt in the land wherein his father was a stranger, in the land of Canaan. %%% Yakobo n'abeeranga mu nsi kitaawe mwe yatuulanga mu nsi ya Kanani. 01GEN037.002 These are the generations of Jacob. Joseph, being seventeen years old, was feeding the flock with his brethren; and the lad was with the sons of Bilhah, and with the sons of Zilpah, his father's wives: and Joseph brought unto his father their evil report. %%% Okuzaala kwa Yakobo kuukuno. Yusufu bwe yali yaakamaze emyaka kkumi na musanvu, yali alunda ekisibo awamu ne baganda be: omulenzi n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe: Yusufu n'abuuliranga kitaabwe ebigambo byabwe ebibi. 01GEN037.003 Now Israel loved Joseph more than all his children, because he was the son of his old age: and he made him a coat of many colours. %%% Era Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye: n'amutungira ekizibawo eky'amabala amangi. 01GEN037.004 And when his brethren saw that their father loved him more than all his brethren, they hated him, and could not speak peaceably unto him. %%% Baganda be ne balaba nga kitaawe yamwagala okusinga baganda be bonna; ne bamukyawa, ne batayinza kwogera naye wabula eby'okuyomba. 01GEN037.005 And Joseph dreamed a dream, and he told it his brethren: and they hated him yet the more. %%% Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be: ne beeyongera nate okumukyawa. 01GEN037.006 And he said unto them, Hear, I pray you, this dream which I have dreamed: %%% N'abagamba nti Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye ndoose: 01GEN037.007 For, behold, we were binding sheaves in the field, and, lo, my sheaf arose, and also stood upright; and, behold, your sheaves stood round about, and made obeisance to my sheaf. %%% kubanga, laba, twali tusiba ebinywa mu nnimiro, era laba, ekinywa kyange ne kiyimirira, era ne kyesimba; era, laba, ebinywa bwammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa kyange. 01GEN037.008 And his brethren said to him, Shalt thou indeed reign over us? or shalt thou indeed have dominion over us? And they hated him yet the more for his dreams, and for his words. %%% Baganda be ne bamugamba nti Okufuga olitufuga ggwe? oba kutwala olitutwala ggwe? Ne beeyongera nate okumukyawa olw'ebirooto bye n'olw'ebigambo bye. 01GEN037.009 And he dreamed yet another dream, and told it his brethren, and said, Behold, I have dreamed a dream more; and, behold, the sun and the moon and the eleven stars made obeisance to me. %%% N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti Laba, ndoose n'ekirooto ekirala; era, laba, enjuba n'omwezi n'emmunnyeenye ekkumi n'emu ne binvuunamira. 01GEN037.010 And he told it to his father, and to his brethren: and his father rebuked him, and said unto him, What is this dream that thou hast dreamed? Shall I and thy mother and thy brethren indeed come to bow down ourselves to thee to the earth? %%% N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti Kirooto ki kino ky'oloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo okujja tulijja okukuvuunamira? 01GEN037.011 And his brethren envied him; but his father observed the saying. %%% Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'ajjukira ebyo bye yayogera. 01GEN037.012 And his brethren went to feed their father's flock in Shechem. %%% Baganda be ne bagenda okulunda ekisibo kya kitaabwe mu Sekemu. 01GEN037.013 And Israel said unto Joseph, Do not thy brethren feed the flock in Shechem? come, and I will send thee unto them. And he said to him, Here am I. %%% Isiraeri n'agamba Yusufu nti Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? jjangu nkutume gye bali. N'amugamba nti Nze nzuuno. 01GEN037.014 And he said to him, Go, I pray thee, see whether it be well with thy brethren, and well with the flocks; and bring me word again. So he sent him out of the vale of Hebron, and he came to Shechem. %%% N'amugamba nti Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gyekiri kirungi; okomewo ombuulire. Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu. 01GEN037.015 And a certain man found him, and, behold, he was wandering in the field: and the man asked him, saying, What seekest thou? %%% Omusajja n'amulaba, era, laba, yali akyamidde mu nsiko: omusajja n'amubuuza nti Onoonya ki? 01GEN037.016 And he said, I seek my brethren: tell me, I pray thee, where they feed their flocks. %%% N'ayogera nti Nnoonya baganda bange: mbuulira, nkwegayiridde, gye balundidde ekisibo. 01GEN037.017 And the man said, They are departed hence; for I heard them say, Let us go to Dothan. And Joseph went after his brethren, and found them in Dothan. %%% Omusajja n'ayogera nti Baagenda: kubanga nabawulira nga boogera nti Tugende e Dosani. Yusufu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dosani. 01GEN037.018 And when they saw him afar off, even before he came near unto them, they conspired against him to slay him. %%% Ne bamulengera ng'akyali wala, ne bamwekobaana nga tannabasemberera okumutta. 01GEN037.019 And they said one to another, Behold, this dreamer cometh. %%% Ne bagambagana nti Laba, sekalootera wuuyo ajja. 01GEN037.020 Come now therefore, and let us slay him, and cast him into some pit, and we will say, Some evil beast hath devoured him: and we shall see what will become of his dreams. %%% Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti Ensolo enkambwe ye yamulya: ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba. 01GEN037.021 And Reuben heard it, and he delivered him out of their hands; and said, Let us not kill him. %%% Lewubeeni n'awulira ekyo, n'amuwonya mu mukono gwabwe; n'ayogera nti Tuleme okumuttira ddala. 01GEN037.022 And Reuben said unto them, Shed no blood, but cast him into this pit that is in the wilderness, and lay no hand upon him; that he might rid him out of their hands, to deliver him to his father again. %%% Lewubeeni n'abagamba nti Temuyiwa musaayi; mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumussaako mukono: alyoke amuwonye mu mukono gwabwe, okumuddiza kitaawe. 01GEN037.023 And it came to pass, when Joseph was come unto his brethren, that they stript Joseph out of his coat, his coat of many colours that was on him; %%% Awo olwatuuka, Yusufu bwe yatuuka eri baganda be, ne bambula Yusufu ekizibawo kye, ekizibawo eky'amabala amangi kye yali ayambadde; 01GEN037.024 And they took him, and cast him into a pit: and the pit was empty, there was no water in it. %%% ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya: n'obunnya bwali bukalu nga temuli mazzi. 01GEN037.025 And they sat down to eat bread: and they lifted up their eyes and looked, and, behold, a company of Ishmeelites came from Gilead with their camels bearing spicery and balm and myrrh, going to carry it down to Egypt. %%% Ne batuula okulya emmere: ne bayimusa amaaso gaabwe ne batunula, era, laba, ekibiina ky'Abaisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne moli, nga babitwala mu Misiri. 01GEN037.026 And Judah said unto his brethren, What profit is it if we slay our brother, and conceal his blood? %%% Yuda n'agamba baganda be nti Kiritugasa kitya okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe? 01GEN037.027 Come, and let us sell him to the Ishmeelites, and let not our hand be upon him; for he is our brother and our flesh. And his brethren were content. %%% Kale ttumuguze Abaisimaeri, so omukono gwaffe guleme okumubaako; kubanga ye muganda waffe, gwe mubiri gwaffe. Baganda be ne bamuwulira. 01GEN037.028 Then there passed by Midianites merchantmen; and they drew and lifted up Joseph out of the pit, and sold Joseph to the Ishmeelites for twenty pieces of silver: and they brought Joseph into Egypt. %%% Abamidiyaani, ab'obuguzi, ne bayitawo; ne bawalula Yusufu ne bamuggya mu bunnya, ne baguza Abaisimaeri Yusufu ebitundu by'effeeza amakubi abiri. Ne batwala Yusufu mu Misiri. 01GEN037.029 And Reuben returned unto the pit; and, behold, Joseph was not in the pit; and he rent his clothes. %%% Lewubeeni n'addayo eri obunnya; era, laba, Yusufu teyali mu bunnya; n'ayuzaayuza engoye ze. 01GEN037.030 And he returned unto his brethren, and said, The child is not; and I, whither shall I go? %%% N'addayo eri baganda be, n'ayogera nti Omwana taliiyo; nange ndigenda wa? 01GEN037.031 And they took Joseph's coat, and killed a kid of the goats, and dipped the coat in the blood; %%% Ne baddira ekizibawo kya Yusufu, ne batta embuzi ennume, ne bannyika ekizibawo mu musaayi; 01GEN037.032 And they sent the coat of many colours, and they brought it to their father; and said, This have we found: know now whether it be thy son's coat or no. %%% ne baweereza ekizibawo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe; ne boogera nti Twalaba kino: kaakano tegeera obanga kye kizibawo eky'omwana wo nantiki si kyo. 01GEN037.033 And he knew it, and said, It is my son's coat; an evil beast hath devoured him; Joseph is without doubt rent in pieces. %%% N'akitegeera, n'ayogera nti Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo embi yamulya; Yusufu yataagulwataagulwa awatali kubuusabuusa. 01GEN037.034 And Jacob rent his clothes, and put sackcloth upon his loins, and mourned for his son many days. %%% Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we ennaku nnyingi. 01GEN037.035 And all his sons and all his daughters rose up to comfort him; but he refused to be comforted; and he said, For I will go down into the grave unto my son mourning. Thus his father wept for him. %%% Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bagolokoka okumusanyusa; naye n'agaana okusanyusibwa; n'ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba. Kitaawe n'amulirira amaziga. 01GEN037.036 And the Midianites sold him into Egypt unto Potiphar, an officer of Pharaoh's, and captain of the guard. %%% Abamidiyaani ne bamuguza Potifali mu Misiri, ye mwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa. 01GEN038.001 And it came to pass at that time, that Judah went down from his brethren, and turned in to a certain Adullamite, whose name was Hirah. %%% Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'aserengeta, n'ayingira mu nnyumba ey'omu Adulamu, erinnya lye Kira. 01GEN038.002 And Judah saw there a daughter of a certain Canaanite, whose name was Shuah; and he took her, and went in unto her. %%% Yuda n'alabayo omukazi omwana w'Omukanani erinnya lye Suwa; n'amutwala, n'ayingira gy'ali. 01GEN038.003 And she conceived, and bare a son; and he called his name Er. %%% N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; Yuda n'amutuuma erinnya Eri. 01GEN038.004 And she conceived again, and bare a son; and she called his name Onan. %%% N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya Onani. 01GEN038.005 And she yet again conceived, and bare a son; and called his name Shelah: and he was at Chezib, when she bare him. %%% Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seera: ne Yuda yali mu Kezibi, bwe yamuzaala. 01GEN038.006 And Judah took a wife for Er his firstborn, whose name was Tamar. %%% Yuda n'awasiza Eri omwana we omubereberye omukazi, erinnya lye Tamali. 01GEN038.007 And Er, Judah's firstborn, was wicked in the sight of the LORD; and the LORD slew him. %%% Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta. 01GEN038.008 And Judah said unto Onan, Go in unto thy brother's wife, and marry her, and raise up seed to thy brother. %%% Yuda n'agamba Onani nti Yingira eri omukazi wa muganda wo, omuwase nga bwe kigwanira muganda wa bba, oddizeewo muganda wo ezzadde. 01GEN038.009 And Onan knew that the seed should not be his; and it came to pass, when he went in unto his brother's wife, that he spilled it on the ground, lest that he should give seed to his brother. %%% Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yayingira eri omukazi wa muganda we, n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde. 01GEN038.010 And the thing which he did displeased the LORD: wherefore he slew him also. %%% N'ekigambo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama: n'oyo n'amutta. 01GEN038.011 Then said Judah to Tamar his daughter in law, Remain a widow at thy father's house, till Shelah my son be grown: for he said, Lest peradventure he die also, as his brethren did. And Tamar went and dwelt in her father's house. %%% Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula: kubanga yayogera nti N'oyo aleme okufa nga baganda be. Tamali n'agenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe. 01GEN038.012 And in process of time the daughter of Shuah Judah's wife died; and Judah was comforted, and went up unto his sheepshearers to Timnath, he and his friend Hirah the Adullamite. %%% Ebiro ne biyitawo omuwala wa Suwa, omukazi wa Yuda, n'afa; Yuda n'ayabya olumbe, n'ayambuka, ye ne mukwano gwe Kira Omwadulamu, e Timuna eri basajja be abaasala endiga ebyoya. 01GEN038.013 And it was told Tamar, saying, Behold thy father in law goeth up to Timnath to shear his sheep. %%% Ne babuulira Tamali nti Laba, ssezaala wo ayambuka e Timuna okusala endiga ze ebyoya. 01GEN038.014 And she put her widow's garments off from her, and covered her with a vail, and wrapped herself, and sat in an open place, which is by the way to Timnath; for she saw that Shelah was grown, and she was not given unto him to wife. %%% N'ayambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa. 01GEN038.015 When Judah saw her, he thought her to be an harlot; because she had covered her face. %%% Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nga mwenzi; kubanga yali yeebisse mu maaso. 01GEN038.016 And he turned unto her by the way, and said, Go to, I pray thee, let me come in unto thee; (for he knew not that she was his daughter in law.) And she said, What wilt thou give me, that thou mayest come in unto me? %%% N'akyamira gy'ali okuva mu kkubo n'ayogera nti Kale nno, nkwegayiridde, nnyingire gy'oli: kubanga teyamanya nga ye muka mwana we. N'ayogera nti Onompa ki bw'onooyingira gye ndi? 01GEN038.017 And he said, I will send thee a kid from the flock. And she said, Wilt thou give me a pledge, till thou send it? %%% N'ayogera nti Ndikuweereza omwana gw'embuzi ogw'omu kisibo. N'ayogera ati Onompa omusingo, okutuusa lw'oliguweereza? 01GEN038.018 And he said, What pledge shall I give thee? And she said, Thy signet, and thy bracelets, and thy staff that is in thine hand. And he gave it her, and came in unto her, and she conceived by him. %%% N'ayogera nti Musingo ki gwe nnaakuwa? N'ayogera nti akabonero ko n’akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo. N'abimuwa, n'ayingira gy'ali, naye n'aba olubuto olulwe. 01GEN038.019 And she arose, and went away, and laid by her vail from her, and put on the garments of her widowhood. %%% N'agolokoka, ne yeegendera, n'ayambulamu olw'okubikka ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obunnamwandu bwe. 01GEN038.020 And Judah sent the kid by the hand of his friend the Adullamite, to receive his pledge from the woman's hand: but he found her not. %%% Yuda n'aweereza omwana gw'embuzi mu mukono gwa mukwano gwe Omwadulamu, okuweebwa, omusingo mu mukono gw'omukazi: naye n'atamulaba. 01GEN038.021 Then he asked the men of that place, saying, Where is the harlot, that was openly by the way side? And they said, There was no harlot in this place. %%% N'alyoka abuuza abasajja ab'ekifo kye nti Omwenzi ali ludda wa eyali e Nayimu ku mabbali g'ekkubo? Ne boogera nti Tewabanga wano mwenzi. 01GEN038.022 And he returned to Judah, and said, I cannot find her; and also the men of the place said, that there was no harlot in this place. %%% N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti Tewabanga wano mwenzi. 01GEN038.023 And Judah said, Let her take it to her, lest we be shamed: behold, I sent this kid, and thou hast not found her. %%% Yuda n'ayogera nti Agyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi: laba, naweerezza omwana ogwo ogw'embuzi, naawe n'otomulaba. 01GEN038.024 And it came to pass about three months after, that it was told Judah, saying, Tamar thy daughter in law hath played the harlot; and also, behold, she is with child by whoredom. And Judah said, Bring her forth, and let her be burnt. %%% Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti Tamali muka mwana wo yayenda; era nate, laba, ali lubuto lwa bwenzi. Yuda n'ayogera nti Mumufulumye, bamwokye. 01GEN038.025 When she was brought forth, she sent to her father in law, saying, By the man, whose these are, am I with child: and she said, Discern, I pray thee, whose are these, the signet, and bracelets, and staff. %%% Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti Omusajja nannyini bino ye yangira olubuto: n'ayogera nti Tegeera, nkwegayiridde, bino by'ani, akabonero n'obujegere n'omuggo. 01GEN038.026 And Judah acknowledged them, and said, She hath been more righteous than I; because that I gave her not to Shelah my son. And he knew her again no more. %%% Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga saamuwa Seera omwana wange. N'atamumanya nate lwa kubiri. 01GEN038.027 And it came to pass in the time of her travail, that, behold, twins were in her womb. %%% Awo olwatuuka entuuko ze bwe zaatuuka okuzaala, laba, abalongo ne baba mu lubuto lwe. 01GEN038.028 And it came to pass, when she travailed, that the one put out his hand: and the midwife took and bound upon his hand a scarlet thread, saying, This came out first. %%% Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze: omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti Ono ye asoose okufuluma. 01GEN038.029 And it came to pass, as he drew back his hand, that, behold, his brother came out: and she said, How hast thou broken forth? this breach be upon thee: therefore his name was called Pharez. %%% Awo olwatuuka, bwe yazzaayo engalo, laba, muganda we n'afuluma; n'ayogera nti Kiki ekikuwaguza wekka? erinnya lye kyeryava lituumibwa Pereezi. 01GEN038.030 And afterward came out his brother, that had the scarlet thread upon his hand: and his name was called Zarah. %%% Oluvannyuma muganda we n'afuluma, eyalina akagoye akamyufu ku ngalo ze: n'atuumwa erinnya Zeera. 01GEN039.001 And Joseph was brought down to Egypt; and Potiphar, an officer of Pharaoh, captain of the guard, an Egyptian, bought him of the hands of the Ishmeelites, which had brought him down thither. %%% Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula mu mukono gw'Abaisimaeri, abaamuserengesa eyo. 01GEN039.002 And the LORD was with Joseph, and he was a prosperous man; and he was in the house of his master the Egyptian. %%% Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. 01GEN039.003 And his master saw that the LORD was with him, and that the LORD made all that he did to prosper in his hand. %%% Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa buli kye yakola okuba n'omukisa mu mukono gwe. 01GEN039.004 And Joseph found grace in his sight, and he served him: and he made him overseer over his house, and all that he had he put into his hand. %%% Yusufu n'alaba ekisa mu maaso ge, n'amuweereza: n'amufuula omulabirizi w'ennyumba ye, ne bye yali nabyo byonna n'abiteeka mu mukono gwe. 01GEN039.005 And it came to pass from the time that he had made him overseer in his house, and over all that he had, that the LORD blessed the Egyptian's house for Joseph's sake; and the blessing of the LORD was upon all that he had in the house, and in the field. %%% Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa ennyumba ey'Omumisiri omukisa ku bwa Yusufu: omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro. 01GEN039.006 And he left all that he had in Joseph's hand; and he knew not ought he had, save the bread which he did eat. And Joseph was a goodly person, and well favoured. %%% N'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya kintu ekyali naye wabula emmere gye yalyanga. Era Yusufu yali mulungi, n'amaaso ge ga kusanyusa. 01GEN039.007 And it came to pass after these things, that his master's wife cast her eyes upon Joseph; and she said, Lie with me. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n’atunuulira Yusufu; n'ayogera nti Sula nange. 01GEN039.008 But he refused, and said unto his master's wife, Behold, my master wotteth not what is with me in the house, and he hath committed all that he hath to my hand; %%% Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange; 01GEN039.009 There is none greater in this house than I; neither hath he kept back any thing from me but thee, because thou art his wife: how then can I do this great wickedness, and sin against God? %%% tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda? 01GEN039.010 And it came to pass, as she spake to Joseph day by day, that he hearkened not unto her, to lie by her, or to be with her. %%% Awo olwatuuka bwe yayogera ne Yusufu buli lunaku, n'atamuwuliranga, okusula naye, oba kubeera naye. 01GEN039.011 And it came to pass about this time, that Joseph went into the house to do his business; and there was none of the men of the house there within. %%% Awo olwatuuka mu biro ebyo n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; so nga siwali basajja ba mu nnyumba muli munda. 01GEN039.012 And she caught him by his garment, saying, Lie with me: and he left his garment in her hand, and fled, and got him out. %%% N'amukwatako ekyambalo kye ng'ayogera nti Sula nange: n'aleka ekyambalo kye mu mukono gwe, n'adduka, n'avaayo. 01GEN039.013 And it came to pass, when she saw that he had left his garment in her hand, and was fled forth, %%% Awo olwatuuka, bwe yalaba ng'alese ekyambalo kye mu mukono gwe n'adduka n'avaayo, 01GEN039.014 That she called unto the men of her house, and spake unto them, saying, See, he hath brought in an Hebrew unto us to mock us; he came in unto me to lie with me, and I cried with a loud voice: %%% n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti Laba, yayingiza Omwebbulaniya okutuduulira; ayingidde gye ndi okusula nange, ne nkoowoola n'eddoboozi ddene: 01GEN039.015 And it came to pass, when he heard that I lifted up my voice and cried, that he left his garment with me, and fled, and got him out. %%% awo olwatuuse, bw'awulidde nga nnyimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi n'adduka n'avaayo. 01GEN039.016 And she laid up his garment by her, until his lord came home. %%% N'atereka ekyambalo kye ewuwe, okutuusa mukama we bwe yakomawo eka. 01GEN039.017 And she spake unto him according to these words, saying, The Hebrew servant, which thou hast brought unto us, came in unto me to mock me: %%% N'amugamba ng'ebigambo bino bwe biri nti Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera yayingira gye ndi okunduulira: 01GEN039.018 And it came to pass, as I lifted up my voice and cried, that he left his garment with me, and fled out. %%% awo olwatuuka, bwe nnayimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'avaayo. 01GEN039.019 And it came to pass, when his master heard the words of his wife, which she spake unto him, saying, After this manner did thy servant to me; that his wrath was kindled. %%% Awo olwatuuka, mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba nti Bw'atyo omuddu wo bwe yankolera; obusungu bwe ne bubuubuuka. 01GEN039.020 And Joseph's master took him, and put him into the prison, a place where the king's prisoners were bound: and he was there in the prison. %%% Mukama wa Yusufu n'amutwala, n’amussa mu kkomera, ekifo abasibe ba kabaka mwe baasibirwa: n'abeera omwo mu kkomera. 01GEN039.021 But the LORD was with Joseph, and shewed him mercy, and gave him favour in the sight of the keeper of the prison. %%% Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n’amulaga ebirungi, n'amuwa ekisa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera. 01GEN039.022 And the keeper of the prison committed to Joseph's hand all the prisoners that were in the prison; and whatsoever they did there, he was the doer of it. %%% Omukuumi w'ekkomera n'ateresa Yusufu mu mukono gwe abasibe bonna abaali mu kkomera; ne byonna bye baakola eyo, oyo ye yabikola. 01GEN039.023 The keeper of the prison looked not to any thing that was under his hand; because the LORD was with him, and that which he did, the LORD made it to prosper. %%% Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwe, kubanga Mukama yali wamu naye; n'ebyo bye yakola, Mukama n'abiwa omukisa. 01GEN040.001 And it came to pass after these things, that the butler of the king of Egypt and his baker had offended their lord the king of Egypt. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka w'e Misiri. 01GEN040.002 And Pharaoh was wroth against two of his officers, against the chief of the butlers, and against the chief of the bakers. %%% Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro. 01GEN040.003 And he put them in ward in the house of the captain of the guard, into the prison, the place where Joseph was bound. %%% n'abasiba mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa. 01GEN040.004 And the captain of the guard charged Joseph with them, and he served them: and they continued a season in ward. %%% Omukulu w'abambowa n'abateresa Yusufu, n'abaweereza: ne bamalayo ekiseera nga basibiddwa. 01GEN040.005 And they dreamed a dream both of them, each man his dream in one night, each man according to the interpretation of his dream, the butler and the baker of the king of Egypt, which were bound in the prison. %%% Ne baloota ekirooto bombi, buli muntu ekirooto kye mu kiro kimu, buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, abaasibibwa mu kkomera. 01GEN040.006 And Joseph came in unto them in the morning, and looked upon them, and, behold, they were sad. %%% Yusufu n'ayingira gye baali enkya, n'abalaba, era, laba, baali banakuwadde. 01GEN040.007 And he asked Pharaoh's officers that were with him in the ward of his lord's house, saying, Wherefore look ye so sadly to day? %%% N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, ng'ayogera nti Kiki ekinakuwazizza bwe kityo amaaso gammwe leero? 01GEN040.008 And they said unto him, We have dreamed a dream, and there is no interpreter of it. And Joseph said unto them, Do not interpretations belong to God? tell me them, I pray you. %%% Ne bamugamba nti Tuloose ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo. Yusufu n'abagamba nti Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? mukimbuulire, mbeegayiridde. 01GEN040.009 And the chief butler told his dream to Joseph, and said to him, In my dream, behold, a vine was before me; %%% Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange; 01GEN040.010 And in the vine were three branches: and it was as though it budded, and her blossoms shot forth; and the clusters thereof brought forth ripe grapes: %%% ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu: ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu: 01GEN040.011 And Pharaoh's cup was in my hand: and I took the grapes, and pressed them into Pharaoh's cup, and I gave the cup into Pharaoh's hand. %%% n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo. 01GEN040.012 And Joseph said unto him, This is the interpretation of it: The three branches are three days: %%% Yusufu n'amugamba nti Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu; 01GEN040.013 Yet within three days shall Pharaoh lift up thine head, and restore thee unto thy place: and thou shalt deliver Pharaoh's cup into his hand, after the former manner when thou wast his butler. %%% walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo n'akukomyawo mu bwami bwo: era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, ng'empisa bwe yali edda bwe wali omusenero we. 01GEN040.014 But think on me when it shall be well with thee, and shew kindness, I pray thee, unto me, and make mention of me unto Pharaoh, and bring me out of this house: %%% Naye onjijukiranga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onziye mu nnyumba muno: 01GEN040.015 For indeed I was stolen away out of the land of the Hebrews: and here also have I done nothing that they should put me into the dungeon. %%% kubanga amazima nanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya: era ne kuno sikolanga kigambo ekyandibanteesezza mu kkomera. 01GEN040.016 When the chief baker saw that the interpretation was good, he said unto Joseph, I also was in my dream, and, behold, I had three white baskets on my head: %%% Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti Nange mbadde mu kirooto kyange, era, laba, ebibbo ebisatu ebibaddemu emmere enjeru ne biba ku mutwe gwange: 01GEN040.017 And in the uppermost basket there was of all manner of bakemeats for Pharaoh; and the birds did eat them out of the basket upon my head. %%% ne mu kibbo ekya waggulu mubaddemu engeri zonna ez’emmere enjokye eza Falaawo; ennyonyi ne ziziriira mu kibbo ku mutwe gwange. 01GEN040.018 And Joseph answered and said, This is the interpretation thereof: The three baskets are three days: %%% Yusufu n'addamu n'ayogera nti Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu; 01GEN040.019 Yet within three days shall Pharaoh lift up thy head from off thee, and shall hang thee on a tree; and the birds shall eat thy flesh from off thee. %%% walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo okuva ku ggwe, era alikuwanika ku muti; n'ennyonyi zirirya ennyama yo okugiggya ku ggwe. 01GEN040.020 And it came to pass the third day, which was Pharaoh's birthday, that he made a feast unto all his servants: and he lifted up the head of the chief butler and of the chief baker among his servants. %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'agulumiza omutwe gw'omusenero omukulu n'omutwe gw'omufumbiro omukulu mu baddu be. 01GEN040.021 And he restored the chief butler unto his butlership again; and he gave the cup into Pharaoh's hand:%%% N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo: 01GEN040.022 But he hanged the chief baker: as Joseph had interpreted to them. %%% naye n'awanika omufumbiro omukulu: nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu. 01GEN040.023 Yet did not the chief butler remember Joseph, but forgat him. %%% Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira. 01GEN041.001 And it came to pass at the end of two full years, that Pharaoh dreamed: and, behold, he stood by the river. %%% Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n'aloota: era, laba, yali ayimiridde ku mugga. 01GEN041.002 And, behold, there came up out of the river seven well favoured kine and fatfleshed; and they fed in a meadow. %%% Era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu ennungi eza ssava; ne ziriira mu lusa. 01GEN041.003 And, behold, seven other kine came up after them out of the river, ill favoured and leanfleshed; and stood by the other kine upon the brink of the river. %%% Era, laba, ente endala omusanvu ne ziziddirira ne ziva mu mugga, embi enkovvu; ne ziyimirira ku mabbali g'omugga awali ente endala. 01GEN041.004 And the ill favoured and leanfleshed kine did eat up the seven well favoured and fat kine. So Pharaoh awoke. %%% N'ente embi enkovvu ne zirya ente omusanvu ennungi eza ssava. Kale Falaawo n'azuukuka. 01GEN041.005 And he slept and dreamed the second time: and, behold, seven ears of corn came up upon one stalk, rank and good. %%% Ne yeebaka n'aloota omulundi ogw'okubiri: era, laba, ebirimba by'eŋŋaano musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebigimu ebirungi. 01GEN041.006 And, behold, seven thin ears and blasted with the east wind sprung up after them. %%% Era, laba, ebirimba musanvu ebitono ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba ne bibiddirira ne bimera. 01GEN041.007 And the seven thin ears devoured the seven rank and full ears. And Pharaoh awoke, and, behold, it was a dream. %%% Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebigimu ebinene. Falaawo n'azuukuka, era, laba, kibadde kirooto. 01GEN041.008 And it came to pass in the morning that his spirit was troubled; and he sent and called for all the magicians of Egypt, and all the wise men thereof: and Pharaoh told them his dream; but there was none that could interpret them unto Pharaoh. %%% Awo olwatuuka enkya omwoyo gwe ne gweraliikirira: n'atuma n'ayita abasawo bonna ab'omu Misiri, n'abagezigezi bonna abaamu: Falaawo n'ababuulira ekirooto kye; naye tewaali ayinza okutegeeza Falaawo amakulu gaakyo. 01GEN041.009 Then spake the chief butler unto Pharaoh, saying, I do remember my faults this day: %%% Omusenero omukulu n’alyoka agamba Falaawo nti Njijukidde leero okwonoona kwange: 01GEN041.010 Pharaoh was wroth with his servants, and put me in ward in the captain of the guard's house, both me and the chief baker: %%% Falaawo yasunguwalira abaddu be, n'ansibira mu unyumba ey'omukulu w'abambowa, nze n'omufumbiro omukulu: 01GEN041.011 And we dreamed a dream in one night, I and he; we dreamed each man according to the interpretation of his dream. %%% ne tuloota ekirooto mu kiro kimu nze naye; twaloota buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali. 01GEN041.012 And there was there with us a young man, an Hebrew, servant to the captain of the guard; and we told him, and he interpreted to us our dreams; to each man according to his dream he did interpret. %%% Era yaliyo wamu naffe omulenzi, Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira, n'atutegeeza amakulu g'ebirooto byaffe; yategeeza buli muntu ng'ekirooto kye bwe kyali. 01GEN041.013 And it came to pass, as he interpreted to us, so it was; me he restored unto mine office, and him he hanged. %%% Awo olwatuuka, nga bwe yatutegeeza, ne kiba bwe kityo; nze yanziza mu bwami, n'oyo yamuwanika. 01GEN041.014 Then Pharaoh sent and called Joseph, and they brought him hastily out of the dungeon: and he shaved himself, and changed his raiment, and came in unto Pharaoh. %%% Falaawo n'alyoka atuma n’ayita Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera: n'amwa, n'awaanyisa ebyambalo bye, n’ayingira eri Falaawo. 01GEN041.015 And Pharaoh said unto Joseph, I have dreamed a dream, and there is none that can interpret it: and I have heard say of thee, that thou canst understand a dream to interpret it. %%% Falaawo n'agamba Yusufu nti Naloota ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo: era mpulidde nga boogera ku ggwe ng'oyinza okutegeeza amakulu g'ekirooto bw'okiwulira. 01GEN041.016 And Joseph answered Pharaoh, saying, It is not in me: God shall give Pharaoh an answer of peace. %%% Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera nti Si mu nze: Katonda y'anaawa Falaawo okuddamu okw'emirembe. 01GEN041.017 And Pharaoh said unto Joseph, In my dream, behold, I stood upon the bank of the river: %%% Falaawo n'agamba Yusufu nti Mu kirooto kyaage, laba, nga nnyimiridde ku mabbali g'omugga: 01GEN041.018 And, behold, there came up out of the river seven kine, fatfleshed and well favoured; and they fed in a meadow: %%% era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu, eza ssava ennungi; ne ziriira mu lusa: 01GEN041.019 And, behold, seven other kine came up after them, poor and very ill favoured and leanfleshed, such as I never saw in all the land of Egypt for badness: %%% era, laba, ente musanvu endala ne ziziddirira ne zirinnya, ennafu embi ennyo enkovvu, ze ssirabangako mu nsi yonna ey'e Misiri obubi: 01GEN041.020 And the lean and the ill favoured kine did eat up the first seven fat kine: %%% ente enkovvu embi ne zirya ente omusaavu eza ssava ezisoose: 01GEN041.021 And when they had eaten them up, it could not be known that they had eaten them; but they were still ill favoured, as at the beginning. So I awoke. %%% awo bwe zaamala okuzirya ne kitategeerekeka nga ziziridde; naye nga zikyali mbi ng'olubereberye. Awo ne nzuukuka. 01GEN041.022 And I saw in my dream, and, behold, seven ears came up in one stalk, full and good: %%% Ne ndabira mu kirooto kyange, era, laba, ebirimba musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebinene ebirungi: 01GEN041.023 And, behold, seven ears, withered, thin, and blasted with the east wind, sprung up after them: %%% era, laba, ebirimba musanvu, ebiwotose, ebitono, ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba, ne bibiddirira ne bimera 01GEN041.024 And the thin ears devoured the seven good ears: and I told this unto the magicians; but there was none that could declare it to me. %%% ebirimba ebitono ne bimira ebirimba ebirungi omusanvu: ne nkibuulira abasawo; naye siwali ayinza okukintegeeza. 01GEN041.025 And Joseph said unto Pharaoh, The dream of Pharaoh is one: God hath shewed Pharaoh what he is about to do. %%% Yusufu n'agamba Falaawo nti Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda by'agenda okukola, yabibuulira Falaawo. 01GEN041.026 The seven good kine are seven years; and the seven good ears are seven years: the dream is one. %%% Ente omusanvu ennungi gy’emyaka omusaavu; n'ebirimba omusanvu ebirungi gye myaka omusanvu: ekirooto kiri kimu. 01GEN041.027 And the seven thin and ill favoured kine that came up after them are seven years; and the seven empty ears blasted with the east wind shall be seven years of famine. %%% N'ente omusanvu enkovvu embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba; egyo giriba myaka omusanvu egy'enjala. 01GEN041.028 This is the thing which I have spoken unto Pharaoh: What God is about to do he sheweth unto Pharaoh. %%% Ekyo kye kigambo kye mbuulidde Falaawo: Katonda by'agenda okukola, yabiraga Falaawo. 01GEN041.029 Behold, there come seven years of great plenty throughout all the land of Egypt: %%% Laba, girijja emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri: 01GEN041.030 And there shall arise after them seven years of famine; and all the plenty shall be forgotten in the land of Egypt; and the famine shall consume the land; %%% oluvannyuma lw'egyo giribaawo emyaka musanvu egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'enjala erizikiriza ensi; 01GEN041.031 And the plenty shall not be known in the land by reason of that famine following; for it shall be very grievous. %%% n'ekyengera tekirimanyibwa mu nsi olw'enjala erikiddirira; kubanga eriba nnyingi nnyo. 01GEN041.032 And for that the dream was doubled unto Pharaoh twice; it is because the thing is established by God, and God will shortly bring it to pass. %%% Era kubanga ekirooto kyayongererwa Falaawo emirundi ebiri, kyekyava kyongerwa kubanga ekigambo kinywezebwa Katonda, era Katonda alikituukiriza mangu. 01GEN041.033 Now therefore let Pharaoh look out a man discreet and wise, and set him over the land of Egypt. %%% Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukabakaba ow'amagezi, amuwe okufuga ensi ey'e Misiri. 01GEN041.034 Let Pharaoh do this, and let him appoint officers over the land, and take up the fifth part of the land of Egypt in the seven plenteous years. %%% Falaawo akole bw'atyo, era asseewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky'ekkumi eky'ensi ey'e Misiri mu myaka omusanvu egy'ekyengera. 01GEN041.035 And let them gather all the food of those good years that come, and lay up corn under the hand of Pharaoh, and let them keep food in the cities. %%% Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, baterekere eŋŋaano mu bibuga mu mukono gwa Falaawo, bagikuume. 01GEN041.036 And that food shall be for store to the land against the seven years of famine, which shall be in the land of Egypt; that the land perish not through the famine. %%% N'emmere eyo eriba eggwanika ery'ensi olw'emyaka omusanvu egy'enjala, egiribaawo mu nsi ey'e Misiri; ensi ereme okufa enjala. 01GEN041.037 And the thing was good in the eyes of Pharaoh, and in the eyes of all his servants. %%% N'ekigambo ekyo kyali kirungi mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g'abaddu be bonna. 01GEN041.038 And Pharaoh said unto his servants, Can we find such a one as this is, a man in whom the Spirit of God is? %%% Falaawo n'agamba abaddu be nti Tuliyinza okulaba omusajja afaanana ng'oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda? 01GEN041.039 And Pharaoh said unto Joseph, Forasmuch as God hath shewed thee all this, there is none so discreet and wise as thou art: %%% Falaawo n'agamba Yusufu nti Kubanga Katonda akulaze cbyo byonna, tewali mukabakaba era ow'amagezi nga ggwe: 01GEN041.040 Thou shalt be over my house, and according unto thy word shall all my people be ruled: only in the throne will I be greater than thou. %%% gw'olifuga ennyumba yange, era ng'ekigambo kyo bwe kiri abantu bange bonna banaafugibwanga: naye kyokka mu ntebe yange nze naakusinganga ggwe obukulu. 01GEN041.041 And Pharaoh said unto Joseph, See, I have set thee over all the land of Egypt. %%% Falaawo n’agamba Yusufu nti Laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri. 01GEN041.042 And Pharaoh took off his ring from his hand, and put it upon Joseph's hand, and arrayed him in vestures of fine linen, and put a gold chain about his neck; %%% Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'anaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. 01GEN041.043 And he made him to ride in the second chariot which he had; and they cried before him, Bow the knee: and he made him ruler over all the land of Egypt. %%% N'amutambuliza mu ggaali ery'okubiri lye yalina; ne balangira mu maaso ge nti Mufukamire: n'amuwa okufuga ensi yonna ey'e Misiri. 01GEN041.044 And Pharaoh said unto Joseph, I am Pharaoh, and without thee shall no man lift up his hand or foot in all the land of Egypt. %%% Falaawo n'agamba Yusufu nti Nze ndi Falaawo, era awatali nze tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere kye mu nsi yonna eye Misiri. 01GEN041.045 And Pharaoh called Joseph's name Zaphnathpaaneah; and he gave him to wife Asenath the daughter of Potipherah priest of On. And Joseph went out over all the land of Egypt. %%% Falaawo n'atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. 01GEN041.046 And Joseph was thirty years old when he stood before Pharaoh king of Egypt. And Joseph went out from the presence of Pharaoh, and went throughout all the land of Egypt. %%% Era Yusufu yali yaakamaze emyaka asatu bwe yayimirira mu maaso ga Falaawo kabaka we Misiri. Yusufu n'ava eri Falaawo, n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. 01GEN041.047 And in the seven plenteous years the earth brought forth by handfuls. %%% Ne mu myaka omusanvu egy'ekyengera ensi n'ebala emmere mu bungi. 01GEN041.048 And he gathered up all the food of the seven years, which were in the land of Egypt, and laid up the food in the cities: the food of the field, which was round about every city, laid he up in the same. %%% N'akuŋŋaaayanga emmere yonna ey'emyaka omusanvu egyabaawo mu nsi ey'e Misiri, n’aterekeranga emmere mu bibuga: emmere ey'omu nnuniro ezaali zeetoolodde buli kibuga, yagiterekeranga mu ekyo. 01GEN041.049 And Joseph gathered corn as the sand of the sea, very much, until he left numbering; for it was without number. %%% Yusufu n'atereka eŋŋaano ng'omusenyu ogw'ennyanja, nnyingi nnyo, okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga teyabalikika. 01GEN041.050 And unto Joseph were born two sons before the years of famine came, which Asenath the daughter of Potipherah priest of On bare unto him. %%% Abaana babiri ne bazaalirwa Yusufu omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka, Asenaansi omwana wa Potiferi kabona owe Oni be yamuzaalira. 01GEN041.051 And Joseph called the name of the firstborn Manasseh: For God, said he, hath made me forget all my toil, and all my father's house. %%% Yusufu n'atuuma omubereberye erinnya Manase: nti Kubanga Katonda anneerabizza okutegana kwange n'ennyumba ya kitange yonna. 01GEN041.052 And the name of the second called he Ephraim: For God hath caused me to be fruitful in the land of my affliction. %%% N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu: nti Kubanga Katonda yanjaliza mu nsi ey'okubonaabona kwange. 01GEN041.053 And the seven years of plenteousness, that was in the land of Egypt, were ended. %%% Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako. 01GEN041.054 And the seven years of dearth began to come, according as Joseph had said: and the dearth was in all lands; but in all the land of Egypt there was bread. %%% Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitanula okujja, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri. 01GEN041.055 And when all the land of Egypt was famished, the people cried to Pharaoh for bread: and Pharaoh said unto all the Egyptians, Go unto Joseph; what he saith to you, do. %%% Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere: Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mukolenga bwe mutyo. 01GEN041.056 And the famine was over all the face of the earth: And Joseph opened all the storehouses, and sold unto the Egyptians; and the famine waxed sore in the land of Egypt. %%% Enjala n'ebuna ensi zonna: Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri; enjala n'eba nnyingi mu nsi ey'e Misiri. 01GEN041.057 And all countries came into Egypt to Joseph for to buy corn; because that the famine was so sore in all lands. %%% N'ab'ensi zonna ne bajjira Yusufu mu Misiri okugula eŋŋaano; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna. 01GEN042.001 Now when Jacob saw that there was corn in Egypt, Jacob said unto his sons, Why do ye look one upon another? %%% Era Yakobo n’alaba nga mu Misiri eŋŋaano mweri,Yakobo n'agamba abaana be nti Kiki ekibatunuulizaganya mwekka na mwekka? 01GEN042.002 And he said, Behold, I have heard that there is corn in Egypt: get you down thither, and buy for us from thence; that we may live, and not die. %%% N'ayogera nti Laba, mpulidde nga mu Misiri eŋŋaano mweri: muserengete, mugendeyo, mutugulire eyo; tubeere abalamu, tuleme okufa. 01GEN042.003 And Joseph's ten brethren went down to buy corn in Egypt. %%% Ne baganda ba Yusufu ekkumi ne baserengeta okugula eŋŋaano mu Misiri. 01GEN042.004 But Benjamin, Joseph's brother, Jacob sent not with his brethren; for he said, Lest peradventure mischief befall him. %%% Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be; kubanga yayogera nti Mpozzi akabi kaleme okumubaako. 01GEN042.005 And the sons of Israel came to buy corn among those that came: for the famine was in the land of Canaan. %%% N'abaana ba Isiraeri ne bajja okugula mu abo abajja: kubanga enjala yali mu nsi ya Kanani. 01GEN042.006 And Joseph was the governor over the land, and he it was that sold to all the people of the land: and Joseph's brethren came, and bowed down themselves before him with their faces to the earth. %%% Era Yusufu ye yali omukulu w'ensi; oyo ye yaguzanga abantu bonna ab'omu nsi: baganda ba Yusufu ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi. 01GEN042.007 And Joseph saw his brethren, and he knew them, but made himself strange unto them, and spake roughly unto them; and he said unto them, Whence come ye? And they said, From the land of Canaan to buy food. %%% Yusufu n'alaba baganda be, n'abekkaanya, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gye bali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'abagamba nti Muva wa? Ne boogera nti Mu nsi ya Kanani okugula emmere. 01GEN042.008 And Joseph knew his brethren, but they knew not him. %%% Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamwekkaanya. 01GEN042.009 And Joseph remembered the dreams which he dreamed of them, and said unto them, Ye are spies; to see the nakedness of the land ye are come. %%% Yusufu n'ajjukira ebirooto bye yaloota ku bo, n'abagamba nti Muli bakessi; muzze okulaba ensi bw'eteriimu. 01GEN042.010 And they said unto him, Nay, my lord, but to buy food are thy servants come. %%% Ne bamugamba nti Nedda, mukama wange, naye abaddu bo bazze okugula emmere. 01GEN042.011 We are all one man's sons; we are true men, thy servants are no spies. %%% Fenna tuli baana b'omu; tuli ba mazima, abaddu bo si bakessi n'akatono. 01GEN042.012 And he said unto them, Nay, but to see the nakedness of the land ye are come. %%% N'abagamba nti Nedda, naye muzze okulaba ensi bw'eteriimu. 01GEN042.013 And they said, Thy servants are twelve brethren, the sons of one man in the land of Canaan; and, behold, the youngest is this day with our father, and one is not. %%% Ne boogera nti Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana b'omu mu nsi ya Kanani; era, laba, omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero, n'omu taliiwo. 01GEN042.014 And Joseph said unto them, That is it that I spake unto you, saying, Ye are spies: %%% Yusufu n'abagamba nti Kye kiikyo kye mbagambye nti Muli bakessi: 01GEN042.015 Hereby ye shall be proved: By the life of Pharaoh ye shall not go forth hence, except your youngest brother come hither. %%% bwe mulikemebwa bwe muti: ndayidde obulamu bwa Falaawo, temugenda kuva wano, wabula omwana wa bommwe ng'azze wano. 01GEN042.016 Send one of you, and let him fetch your brother, and ye shall be kept in prison, that your words may be proved, whether there be any truth in you: or else by the life of Pharaoh surely ye are spies. %%% Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe, nammwe munaasibibwa, ebigambo byammwe bikemebwe, oba nga amazima mwegali mu mmwe: oba bwe mutaakole bwe mutyo, ndayidde obulamu bwa Falaawo, mazima muli bakessi. 01GEN042.017 And he put them all together into ward three days. %%% N'abateeka bonna wamu mu kkomera ennaku ssatu. 01GEN042.018 And Joseph said unto them the third day, This do, and live; for I fear God: %%% Yusufu n'abagamba ku lunaku olw'okusatu nti Mukole bwe muti, mubeere abalamu; kubanga ntya Katonda: 01GEN042.019 If ye be true men, let one of your brethren be bound in the house of your prison: go ye, carry corn for the famine of your houses: %%% oba nga muli ba mazima, omu ku baganda bammwe asibibwe mu nnyumba ey'ekkomera lyammwe; naye mmwe mugende, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe; 01GEN042.020 But bring your youngest brother unto me; so shall your words be verified, and ye shall not die. And they did so. %%% era mundeetere omwana wa bommwe; ebigambo byammwe bwe biritegeezebwa nga bya mazima bwe bityo, nammwe temulifa. Ne bakola bwe batyo. 01GEN042.021 And they said one to another, We are verily guilty concerning our brother, in that we saw the anguish of his soul, when he besought us, and we would not hear; therefore is this distress come upon us. %%% Ne bagambagana nti Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku zino kye zivudde zitutuukako. 01GEN042.022 And Reuben answered them, saying, Spake I not unto you, saying, Do not sin against the child; and ye would not hear? therefore, behold, also his blood is required. %%% Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti Saababuulira nti Temusobya ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa. 01GEN042.023 And they knew not that Joseph understood them; for he spake unto them by an interpreter. %%% Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omutegeeza yabanga wakati we nabo. 01GEN042.024 And he turned himself about from them, and wept; and returned to them again, and communed with them, and took from them Simeon, and bound him before their eyes. %%% N'abakuba enkoona, n'akaaba amaziga; n'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe. 01GEN042.025 Then Joseph commanded to fill their sacks with corn, and to restore every man's money into his sack, and to give them provision for the way: and thus did he unto them. %%% Awo Yusufu n'alagira okujjuza ebintu byabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo: ne babakolera bwe batyo. 01GEN042.026 And they laded their asses with the corn, and departed thence. %%% Ne bateeka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda ne bavaayo. 01GEN042.027 And as one of them opened his sack to give his ass provender in the inn, he espied his money; for, behold, it was in his sack's mouth. %%% Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye; era, laba, yali mu kamwa k'ensawo ye. 01GEN042.028 And he said unto his brethren, My money is restored; and, lo, it is even in my sack: and their heart failed them, and they were afraid, saying one to another, What is this that God hath done unto us? %%% N'agamba baganda be nti Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange; omwoyo gwabwe ne gubatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti Kino kiki Katonda ky'atukoze? 01GEN042.029 And they came unto Jacob their father unto the land of Canaan, and told him all that befell unto them; saying, %%% Ne bajjira Yakobo kitaabwe mu nsi ya Kanani, ne bamubuulira byonna ebyababaako; nga boogera nti 01GEN042.030 The man, who is the lord of the land, spake roughly to us, and took us for spies of the country. %%% Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza ng'abakessi b'ensi. 01GEN042.031 And we said unto him, We are true men; we are no spies: %%% Ne tumugamba nti Tuli ba mazima; tetuli bakessi: 01GEN042.032 We be twelve brethren, sons of our father; one is not, and the youngest is this day with our father in the land of Canaan. %%% tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe; omu taliiwo, n'omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero mu nsi ya Kanani. 01GEN042.033 And the man, the lord of the country, said unto us, Hereby shall I know that ye are true men; leave one of your brethren here with me, and take food for the famine of your households, and be gone: %%% Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti Bwe nti bwe nditegeera nga muli basajja ba mazima: muleke wamu nange omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe, mwegendere: 01GEN042.034 And bring your youngest brother unto me: then shall I know that ye are no spies, but that ye are true men: so will I deliver you your brother, and ye shall traffick in the land. %%% mundeetere omwana wa bommwe: awo nnaategeera nga temuli bakessi n'akatono; naye nga muli basajja ba mazima: bwe ntyo ndibawa muganda wammwe, nammwe munaagulanga mu nsi. 01GEN042.035 And it came to pass as they emptied their sacks, that, behold, every man's bundle of money was in his sack: and when both they and their father saw the bundles of money, they were afraid. %%% Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, laba, omutwalo gw'effeeza ogwa buli muntu gwali mu nsawo ye: bo ne kitaabwe bwe baalaba emitwalo gyabwe egy'effeeza, ne batya. 01GEN042.036 And Jacob their father said unto them, Me have ye bereaved of my children: Joseph is not, and Simeon is not, and ye will take Benjamin away: all these things are against me. %%% Yakobo kitaabwe n'abagamba nti Nze munziyeeko abaana bange: Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, era mwagala okunziyaako ne Benyamini: ebyo byonna binzitoowerera. 01GEN042.037 And Reuben spake unto his father, saying, Slay my two sons, if I bring him not to thee: deliver him into my hand, and I will bring him to thee again. %%% Lewubeeni n'agamba kitaawe nti Obattanga batabani bange bombi, bwe sirimukomyawo gy'oli: mumpe mu mukono gwange, nange ndimukomyawo gy'oli nate. 01GEN042.038 And he said, My son shall not go down with you; for his brother is dead, and he is left alone: if mischief befall him by the way in the which ye go, then shall ye bring down my gray hairs with sorrow to the grave. %%% N'ayogera nti Omwana wange taliserengeta nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka: akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala. 01GEN043.001 And the famine was sore in the land. %%% Enjala n'eba nnyingi mu nsi. 01GEN043.002 And it came to pass, when they had eaten up the corn which they had brought out of Egypt, their father said unto them, Go again, buy us a little food. %%% Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'abagamba nti Mugende nate, mutugulire akamere. 01GEN043.003 And Judah spake unto him, saying, The man did solemnly protest unto us, saying, Ye shall not see my face, except your brother be with you. %%% Yuda n'amugamba nti Omusajja yatulayiririra ddala ng'ayogera nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali wamu nammwe. 01GEN043.004 If thou wilt send our brother with us, we will go down and buy thee food: %%% Bw'onoosindika muganda waffe awamu naffe, tunaaserengeta tulikugulira emmere: 01GEN043.005 But if thou wilt not send him, we will not go down: for the man said unto us, Ye shall not see my face, except your brother be with you. %%% naye bw'otoomusindike, tetugenda kuserengeta: kubanga omusajja yatugamba nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe. 01GEN043.006 And Israel said, Wherefore dealt ye so ill with me, as to tell the man whether ye had yet a brother? %%% Isiraeri n'ayogera nti Kiki ekyabankoza obubi obwenkanidde awo okubuulira omusajja nga mulina ow'oluganda omulala? 01GEN043.007 And they said, The man asked us straitly of our state, and of our kindred, saying, Is your father yet alive? have ye another brother? and we told him according to the tenor of these words: could we certainly know that he would say, Bring your brother down? %%% Ne boogera nti Omusajja yatubuuzabubuuza bwe twali ne baganda baffe bwe baali, ng'ayogera nti Kitammwe akyali mulamu? mulina ow'oluganda omulala? ne tumubuulira ng'ebigambo ebyo bwe biri: twandiyinzizza n'akatono okutegeera ng'anaagamba nti Muserengese muganda wammwe? 01GEN043.008 And Judah said unto Israel his father, Send the lad with me, and we will arise and go; that we may live, and not die, both we, and thou, and also our little ones. %%% Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti Sindika omulenzi awamu nange, naffe tunaagolokoka ne tugenda; tube abalamu, tuleme okufa, ffe; naawe, era n'abaana baffe abato. 01GEN043.009 I will be surety for him; of my hand shalt thou require him: if I bring him not unto thee, and set him before thee, then let me bear the blame for ever: %%% Nze naabeera omuyima we; olimuvunaana nze mu mukono gwange: bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna: 01GEN043.010 For except we had lingered, surely now we had returned this second time. %%% kuba singa tetuludde, mazima kaakano twandibadde nga tukomyewo omulundi ogw'okubiri. 01GEN043.011 And their father Israel said unto them, If it must be so now, do this; take of the best fruits in the land in your vessels, and carry down the man a present, a little balm, and a little honey, spices, and myrrh, nuts, and almonds: %%% Kitaabwe Isiraeri n'abagamba nti Oba nga kaakano kiri bwe kityo, mukole bwe muti; mutwale ku bibala eby'omu nsi ebisinga obulungi mu bintu byammwe, mutwalire omusajja ekirabo, envumbo si nnyingi, n'omubisi gw'enjuki, omugavu n'obubaane, ebinywebwa n'endoozi: 01GEN043.012 And take double money in your hand; and the money that was brought again in the mouth of your sacks, carry it again in your hand; peradventure it was an oversight: %%% era mutwale effeeza ebigero bibiri mu ngalo zammwe; n'effeeza eyakomezebwawo mu bumwa bw'ensawo zammwe gitwale nate mu ngalo zammwe; mpozzi baagizza nga tebamanyiridde: 01GEN043.013 Take also your brother, and arise, go again unto the man: %%% era mutwale ne muganda wammwe, mugolokoke, muddeyo eri omusajja: 01GEN043.014 And God Almighty give you mercy before the man, that he may send away your other brother, and Benjamin. If I be bereaved of my children, I am bereaved. %%% era Katonda omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja abasumulurire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa. 01GEN043.015 And the men took that present, and they took double money in their hand, and Benjamin; and rose up, and went down to Egypt, and stood before Joseph. %%% Abasajja ne batwala ekirabo ekyo, ne batwala effeeza ebigero bibiri mu ngalo zaabwe, ne Benyamini; ne bagolokoka, ne baserengeta mu Misiri, ne bayimirira mu maaso ga Yusufu. 01GEN043.016 And when Joseph saw Benjamin with them, he said to the ruler of his house, Bring these men home, and slay, and make ready; for these men shall dine with me at noon. %%% Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti Twala abasajja mu nnyumba, obabaagire, oteeketeeke; kubanga abasajja banaaliira wamu nange mu ttuntu. 01GEN043.017 And the man did as Joseph bade; and the man brought the men into Joseph's house. %%% Omusajja n'akola nga Yusufu bwe yalagira; omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu. 01GEN043.018 And the men were afraid, because they were brought into Joseph's house; and they said, Because of the money that was returned in our sacks at the first time are we brought in; that he may seek occasion against us, and fall upon us, and take us for bondmen, and our asses. %%% Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; atulabireko ensonga, atuwamatukireko, atunyage okuba abaddu, n'endogoyi zaffe. 01GEN043.019 And they came near to the steward of Joseph's house, and they communed with him at the door of the house, %%% Ne basemberera omuwanika w'ennyumba ya Yusufu, ne boogerera naye ku mulyango gw'ennyumba, 01GEN043.020 And said, O sir, we came indeed down at the first time to buy food: %%% ne bagamba nti Ai mukama wange, mazima twaserengeta olubereberye okugula emmere: 01GEN043.021 And it came to pass, when we came to the inn, that we opened our sacks, and, behold, every man's money was in the mouth of his sack, our money in full weight: and we have brought it again in our hand. %%% awo olwatuuka, bwe twatuuka mu kifo ekyokusulamu, ne tusumulula ensawo zaffe, era, laba, effeeza ya buli muntu yali mu kamwa k'ensawo ye, effeeza yaffe ekigero kyayo kituufu: era tugikomezzaawo mu ngalo zaffe. 01GEN043.022 And other money have we brought down in our hands to buy food: we cannot tell who put our money in our sacks. %%% Era tuleese n'effeeza endala mu ngalo zaffe okugula emmere: tetumanyi bw'ali eyateeka effeeza yaffe mu nsawo zaffe. 01GEN043.023 And he said, Peace be to you, fear not: your God, and the God of your father, hath given you treasure in your sacks: I had your money. And he brought Simeon out unto them. %%% N'ayogera nti Emirembe gibe gye muli, temutya: Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe: nnaweebwa effeeza yammwe. N'abafulumiza Simyoni. 01GEN043.024 And the man brought the men into Joseph's house, and gave them water, and they washed their feet; and he gave their asses provender. %%% Omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere byabwe; n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya. 01GEN043.025 And they made ready the present against Joseph came at noon: for they heard that they should eat bread there. %%% Ne bateekateeka ekirabo Yusufu ng'ajja kujja mu, ttutttu: kubanga bawulidde nga banaaliira eyo emmere. 01GEN043.026 And when Joseph came home, they brought him the present which was in their hand into the house, and bowed themselves to him to the earth. %%% Awo, Yusufu bwe yadda eka, ne bamuleetera mu nnyumba ekirabo ekyali mu ngalo zaabwe, ne bamuvuunamira. 01GEN043.027 And he asked them of their welfare, and said, Is your father well, the old man of whom ye spake? Is he yet alive? %%% N'ababuuza bwe baali, n'ayogera nti Kitammwe gyali omukadde gwe mwayogerako? Akyali mulamu? 01GEN043.028 And they answered, Thy servant our father is in good health, he is yet alive. And they bowed down their heads, and made obeisance. %%% Ne boogera nti Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu. Ne bakutama, ne bavuunama. 01GEN043.029 And he lifted up his eyes, and saw his brother Benjamin, his mother's son, and said, Is this your younger brother, of whom ye spake unto me? And he said, God be gracious unto thee, my son. %%% N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti Oyo ye mwana wa bommwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange. 01GEN043.030 And Joseph made haste; for his bowels did yearn upon his brother: and he sought where to weep; and he entered into his chamber, and wept there. %%% Yusufu n'ayanguwa; kubanga emmeeme ye yalumirwa muganda we: n'anoonya w'anaakaabira amaziga; n'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo. 01GEN043.031 And he washed his face, and went out, and refrained himself, and said, Set on bread. %%% N'anaaba mu maaso, n'afuluma; n'azibiikiriza n'ayogera nti Mujjule emmere. 01GEN043.032 And they set on for him by himself, and for them by themselves, and for the Egyptians, which did eat with him, by themselves: because the Egyptians might not eat bread with the Hebrews; for that is an abomination unto the Egyptians. %%% Ne bamusoosootolera ye yekka, nabo bokka, n'Abamisiri, abaaliiranga awamu naye, nabo bokka: kubanga Abamisiri tebayinza kuliira mmere wamu n'Abaebbulaniya; kubanga ekyo kya muzizo eri Abamisiri. 01GEN043.033 And they sat before him, the firstborn according to his birthright, and the youngest according to his youth: and the men marvelled one at another. %%% Ne batuula mu maaso ge, omubereberye ng'obukulu bwe bwe bwali, n'omuto ng'obuto bwe bwe bwali: abasajja ne beewuunya bokka na bokka. 01GEN043.034 And he took and sent messes unto them from before him: but Benjamin's mess was five times so much as any of theirs. And they drank, and were merry with him. %%% N'ababegerako ebitole (ku mmere) eyali mu maaso ge: naye ekitole kya Benyamini kyasinga ebyabwe byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu naye. 01GEN044.001 And he commanded the steward of his house, saying, Fill the men's sacks with food, as much as they can carry, and put every man's money in his sack's mouth. %%% N'alagira omuwanika w'ennyumba ye, ng'ayogera nti jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye. 01GEN044.002 And put my cup, the silver cup, in the sack's mouth of the youngest, and his corn money. And he did according to the word that Joseph had spoken. %%% Era teeka ekikompe kyange, ekikompe ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, n'effeeza ye ey'eŋŋaano. N'akola ng'ekigambo bwe kibadde Yusufu ky'ayogedde. 01GEN044.003 As soon as the morning was light, the men were sent away, they and their asses. %%% Awo bwe bwakya enkya, abasajja ne basiibulwa, bo n'endogoyi zaabwe. 01GEN044.004 And when they were gone out of the city, and not yet far off, Joseph said unto his steward, Up, follow after the men; and when thou dost overtake them, say unto them, Wherefore have ye rewarded evil for good? %%% Bwe baamala okuva mu kibuga, nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti Golokoka, ogoberere abasajja; bw'onoobatuukako, bagambe nti Kiki ekibawalanyizza ebibi olw'obulungi? 01GEN044.005 Is not this it in which my lord drinketh, and whereby indeed he divineth? ye have done evil in so doing. %%% Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anywesa, era n'okulagula ky'alaguza? mwakoze bubi bwe mwakoze bwe mutyo. 01GEN044.006 And he overtook them, and he spake unto them these same words. %%% N'abatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo. 01GEN044.007 And they said unto him, Wherefore saith my lord these words? God forbid that thy servants should do according to this thing: %%% Ne bamugamba nti Kiki ekyogezezza mukama wange ebigambo ebiriŋŋanga ebyo? Kitalo abaddu bo okukola ekigambo ekyenkanidde awo. 01GEN044.008 Behold, the money, which we found in our sacks' mouths, we brought again unto thee out of the land of Canaan: how then should we steal out of thy lord's house silver or gold? %%% Laba, effeeza gye twalaba mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli okuva mu nsi ya Kanani: kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo? 01GEN044.009 With whomsoever of thy servants it be found, both let him die, and we also will be my lord's bondmen. %%% Buli anaalabika ku baddu bo ng'ali nakyo, afe, era naffe; tunaaba abaddu ba mukama wange. 01GEN044.010 And he said, Now also let it be according unto your words: he with whom it is found shall be my servant; and ye shall be blameless. %%% N'ayogera nti Kale nno kaakano kibe ng'ebigambo byammwe bwe biri: anaalabika ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe temuubeeko musango. 01GEN044.011 Then they speedily took down every man his sack to the ground, and opened every man his sack. %%% Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye. 01GEN044.012 And he searched, and began at the eldest, and left at the youngest: and the cup was found in Benjamin's sack. %%% N'anoonya, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto: ekikompe ne kirabikira mu nsawo ya Benyamini. 01GEN044.013 Then they rent their clothes, and laded every man his ass, and returned to the city. %%% Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, ne bateeka ebintu buli muntu ku ndogoyi ye ne baddayo mu kibuga. 01GEN044.014 And Judah and his brethren came to Joseph's house; for he was yet there: and they fell before him on the ground. %%% Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu; ne bamusanga ng'akyaliyo: ne bavuunama mu maaso ge. 01GEN044.015 And Joseph said unto them, What deed is this that ye have done? wot ye not that such a man as I can certainly divine? %%% Yusufu n'abagamba nti Kikolwa ki kino kye mukoze? temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala? 01GEN044.016 And Judah said, What shall we say unto my lord? what shall we speak? or how shall we clear ourselves? God hath found out the iniquity of thy servants: behold, we are my lord's servants, both we, and he also with whom the cup is found. %%% Yuda n'ayogera nti Tunaagamba tutya mukama wange? tunaayogera tutya? oba tunaawoza tutya? Katonda akebedde obutali butuukirivu bw'abaddu bo: laba, tuli baddu ba mukama wange, ffe era n'oyo alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe. 01GEN044.017 And he said, God forbid that I should do so: but the man in whose hand the cup is found, he shall be my servant; and as for you, get you up in peace unto your father. %%% N'ayogera nti Kitalo nze okukola bwe ntyo: omusajja alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe ye anaaba omuddu wange; naye mmwe, mwambuke mugende eri kitammwe n'emirembe. 01GEN044.018 Then Judah came near unto him, and said, Oh my lord, let thy servant, I pray thee, speak a word in my lord's ears, and let not thine anger burn against thy servant: for thou art even as Pharaoh. %%% Yuda n'alyoka amusemberera n'ayogera nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, omuddu wo ayogere ekigambo mu matu ga mukama wange, so obusungu bwo buleme okubuubuukira omuddu wo: kubanga oliŋŋanga, Falaawo ddala. 01GEN044.019 My lord asked his servants, saying, Have ye a father, or a brother? %%% Mukama wange yabuuza abaddu be ng'ayogera nti Mulina kitammwe, oba muganda wammwe? 01GEN044.020 And we said unto my lord, We have a father, an old man, and a child of his old age, a little one; and his brother is dead, and he alone is left of his mother, and his father loveth him. %%% Naffe ne tugamba mukama wange nti Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala. 01GEN044.021 And thou saidst unto thy servants, Bring him down unto me, that I may set mine eyes upon him. %%% Naawe n'ogamba abaddu bo nti Mumundeetere, mmukubeko amaaso. 01GEN044.022 And we said unto my lord, The lad cannot leave his father: for if he should leave his father, his father would die. %%% Ne tugamba mukama wange nti Omulenzi tayinza kuleka kitaawe: kuba bw'alireka kitaawe, kitaawe alifa. 01GEN044.023 And thou saidst unto thy servants, Except your youngest brother come down with you, ye shall see my face no more. %%% N'ogamba abaddu bo nti Mwana wa bommwe bw'ataliserengeta nammwe, temuliraba nate maaso gange. 01GEN044.024 And it came to pass when we came up unto thy servant my father, we told him the words of my lord. %%% Awo olwatuuka bwe twayambuka ne tujja eri omuddu wo kitange, ne tumubuulira ebigambo bya mukama wange. 01GEN044.025 And our father said, Go again, and buy us a little food. %%% Kitaffe n'ayogera nti Muddeeyo nate, mutugulire akamere. 01GEN044.026 And we said, We cannot go down: if our youngest brother be with us, then will we go down: for we may not see the man's face, except our youngest brother be with us. %%% Naffe ne twogera nti Tetuyinza kuserengeta: omwana wa boffe bw'anaabeera awamu naffe, tuliserengeta: kubanga tetuyinza kulaba maaso ga musajja, omwana wa boffe wabula ng'ali wamu naffe. 01GEN044.027 And thy servant my father said unto us, Ye know that my wife bare me two sons: %%% Omuddu wo kitange n'atugamba nti Mumanyi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri: 01GEN044.028 And the one went out from me, and I said, Surely he is torn in pieces; and I saw him not since: %%% omu n'ava gye ndi, ne njogera nti Mazima yataagulwataagulwa; nange sikyamulabako: 01GEN044.029 And if ye take this also from me, and mischief befall him, ye shall bring down my gray hairs with sorrow to the grave. %%% era bwe munanziyako n'oyo, akabi ne kamubaako, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala. 01GEN044.030 Now therefore when I come to thy servant my father, and the lad be not with us; seeing that his life is bound up in the lad's life; %%% Kale kaakano bwe ndijja eri omuddu wo kitange, n'omulenzi nga tali wamu naffe; kubanga obulamu bwe busibiddwa n'obulamu bw'omulenzi; 01GEN044.031 It shall come to pass, when he seeth that the lad is not with us, that he will die: and thy servants shall bring down the gray hairs of thy servant our father with sorrow to the grave. %%% olulituuka bw'aliraba ng'omulenzi taliiwo, alifa: n'abaddu bo baliserengesa envi z'omuddu wo kitaabwe mu magombe olw'okunakuwala. 01GEN044.032 For thy servant became surety for the lad unto my father, saying, If I bring him not unto thee, then I shall bear the blame to my father for ever. %%% Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitange nga njogera nti Bwe sirimuleeta gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitange ennaku zonna. 01GEN044.033 Now therefore, I pray thee, let thy servant abide instead of the lad a bondman to my lord; and let the lad go up with his brethren. %%% Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be. 01GEN044.034 For how shall I go up to my father, and the lad be not with me? lest peradventure I see the evil that shall come on my father. %%% Kubanga ndyambuka ntya eri kitange, n'omulenzi nga tali wamu nange? nneme okulaba akabi akalituuka ku kitange. 01GEN045.001 Then Joseph could not refrain himself before all them that stood by him; and he cried, Cause every man to go out from me. And there stood no man with him, while Joseph made himself known unto his brethren. %%% Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti Mufulumye buli muntu bave gye ndi. Ne wataba muntu ayimiridde naye, Yusufu bwe yali yeeyoleka eri baganda be. 01GEN045.002 And he wept aloud: and the Egyptians and the house of Pharaoh heard. %%% N'akaaba n'eddoboozi ddene: Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira. 01GEN045.003 And Joseph said unto his brethren, I am Joseph; doth my father yet live? And his brethren could not answer him; for they were troubled at his presence. %%% Yusufu n'agamba baganda be nti Nze Yusufu; kitange akyali mulamu? Baganda be ne batayinza kumuddamu; kubanga beeraliikirira mu maaso ge. 01GEN045.004 And Joseph said unto his brethren, Come near to me, I pray you. And they came near. And he said, I am Joseph your brother, whom ye sold into Egypt. %%% Yusufu n'agamba baganda be nti Munsemberere, mbeegayiridde. Ne basembera. N'ayogera nti Nze Yusufu muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri. 01GEN045.005 Now therefore be not grieved, nor angry with yourselves, that ye sold me hither: for God did send me before you to preserve life. %%% Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa. 01GEN045.006 For these two years hath the famine been in the land: and yet there are five years, in the which there shall neither be earing nor harvest. %%% Enjala yaakamaze mu nsi emyaka ebiri: era ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula. 01GEN045.007 And God sent me before you to preserve you a posterity in the earth, and to save your lives by a great deliverance. %%% Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonyeza abalisigala ku mmwe mu nsi, n'okubalokola muleme okufa mu kuwonya okw'ekitalo. 01GEN045.008 So now it was not you that sent me hither, but God: and he hath made me a father to Pharaoh, and lord of all his house, and a ruler throughout all the land of Egypt. %%% Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda: era yanfuula kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri: 01GEN045.009 Haste ye, and go up to my father, and say unto him, Thus saith thy son Joseph, God hath made me lord of all Egypt: come down unto me, tarry not: %%% Mwanguwe, mwambuke mugende eri kitange, mumugambe nti Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti Katonda yanfuula omwami w'e Misiri yonna : oserengete ojje gye ndi, tolwawo: 01GEN045.010 And thou shalt dwell in the land of Goshen, and thou shalt be near unto me, thou, and thy children, and thy children's children, and thy flocks, and thy herds, and all that thou hast: %%% era onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abaana b'abaana bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina: 01GEN045.011 And there will I nourish thee; for yet there are five years of famine; lest thou, and thy household, and all that thou hast, come to poverty. %%% era naakuliisizanga eyo; kubanga ekyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala; oleme okwavuwala, ggwe n'ennyumba yo ne byonna by'olina. 01GEN045.012 And, behold, your eyes see, and the eyes of my brother Benjamin, that it is my mouth that speaketh unto you. %%% Era, laba, amaaso gammwe galaba, era n'amaaso ga muganda wange Benyamini, ng'akamwa kange ke koogera nammwe. 01GEN045.013 And ye shall tell my father of all my glory in Egypt, and of all that ye have seen; and ye shall haste and bring down my father hither. %%% Era mulibuulira kitange ekitiibwa kyange kyonna mu Misiri bwe kiri, ne byonna bye mulabye; era mwanguwe muserengese kitange mumuleete wano. 01GEN045.014 And he fell upon his brother Benjamin's neck, and wept; and Benjamin wept upon his neck. %%% N'agwa muganda we Benyamini mu bulago n'akaaba amaziga; Benya mini n'akaabira mu bulago bwe. 01GEN045.015 Moreover he kissed all his brethren, and wept upon them: and after that his brethren talked with him. %%% N'anywegera baganda be bonna, n'akaabira ku bo: oluvannyuma baganda be ne banyumya naye. 01GEN045.016 And the fame thereof was heard in Pharaoh's house, saying, Joseph's brethren are come: and it pleased Pharaoh well, and his servants. %%% N'ebigambo ebyo ne biwulirwa mu nnyumba ya Falaawo, nti Baganda ba Yusufu bazze : ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaddu be. 01GEN045.017 And Pharaoh said unto Joseph, Say unto thy brethren, This do ye; lade your beasts, and go, get you unto the land of Canaan; %%% Falaawo n'agamba Yusufu nti Gamba baganda bo nti Mukole bwe muti; muteeke ebintu ku nsolo zammwe, mugende muserengete mu nsi ya Kanani; 01GEN045.018 And take your father and your households, and come unto me: and I will give you the good of the land of Egypt, and ye shall eat the fat of the land. %%% mutwale kitammwe n'ennyumba zammwe, mujje ewange: nange ndibawa ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri, era munaalyanga obugimu obw'ensi. 01GEN045.019 Now thou art commanded, this do ye; take you wagons out of the land of Egypt for your little ones, and for your wives, and bring your father, and come. %%% Kaakano olagiddwa, mukole bwe muti: mutwalire abaana bammwe abato ne bakazi bammwe amagaali mu nsi y'e Misiri, muleete kitammwe mujje. 01GEN045.020 Also regard not your stuff; for the good of all the land of Egypt is yours. %%% Era temulowooza bintu byammwe; kubanga ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri byammwe. 01GEN045.021 And the children of Israel did so: and Joseph gave them wagons, according to the commandment of Pharaoh, and gave them provision for the way. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo: Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo. 01GEN045.022 To all of them he gave each man changes of raiment; but to Benjamin he gave three hundred pieces of silver, and five changes of raiment. %%% Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza ebikumi bisatu n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano. 01GEN045.023 And to his father he sent after this manner; ten asses laden with the good things of Egypt, and ten she asses laden with corn and bread and meat for his father by the way. %%% Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati; endogoyi kkumi ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi ezeetisse eŋŋaano n'emmere n'ebyokulya kitaawe by'aliriira mu kkubo. 01GEN045.024 So he sent his brethren away, and they departed: and he said unto them, See that ye fall not out by the way. %%% Bw'atyo n'asiibula baganda be ne bagenda: n’abagamba nti Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo. 01GEN045.025 And they went up out of Egypt, and came into the land of Canaan unto Jacob their father, %%% Ne bayambuka ne bava mu Misiri, ne bajja mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe. 01GEN045.026 And told him, saying, Joseph is yet alive, and he is governor over all the land of Egypt. And Jacob's heart fainted, for he believed them not. %%% Ne bamugamba nti Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. Omutima gwe ne guzirika kubanga teyabakkiriza. 01GEN045.027 And they told him all the words of Joseph, which he had said unto them: and when he saw the wagons which Joseph had sent to carry him, the spirit of Jacob their father revived: %%% Ne bamugamba ebigambo byonna ebya Yusufu, bye yababuulira: kale bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumusitula, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amannyi: 01GEN045.028 And Israel said, It is enough; Joseph my son is yet alive: I will go and see him before I die. %%% Isiraeri n'ayogera nti Kinaamala; Yusufu omwana wange akyali mulamu: ndigenda okumulaba nga sinnafa. 01GEN046.001 And Israel took his journey with all that he had, and came to Beersheba, and offered sacrifices unto the God of his father Isaac. %%% Isiraeri n'atambula ng'atwala byonna bye yalina, n'ajja e Beeruseba, n'awaayo saddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka. 01GEN046.002 And God spake unto Israel in the visions of the night, and said, Jacob, Jacob. And he said, Here am I. %%% Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, nti Yakobo, Yakobo. N'ayogera nti Nze nzuuno. 01GEN046.003 And he said, I am God, the God of thy father: fear not to go down into Egypt; for I will there make of thee a great nation: %%% N'ayogera nti Nze Katonda, Katonda wa kitaawo: totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene: 01GEN046.004 I will go down with thee into Egypt; and I will also surely bring thee up again: and Joseph shall put his hand upon thine eyes. %%% ndiserengeta naawe mu Misiri; era sirirema kukuggyamu nate: era Yusufu aliteeka engalo ze ku maaso go. 01GEN046.005 And Jacob rose up from Beersheba: and the sons of Israel carried Jacob their father, and their little ones, and their wives, in the wagons which Pharaoh had sent to carry him. %%% Yakobo n'agolokoka n'ava mu Beeruseba: abaana ba Isiraerii ne basitulira Yakobo kitaabwe, n'abaana baabwe abato n'abakazi baabwe, mu magaali Falaawo ge yaweereza okumusitula. 01GEN046.006 And they took their cattle, and their goods, which they had gotten in the land of Canaan, and came into Egypt, Jacob, and all his seed with him: %%% Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bajja mu Misiri, Yakobo n'ezzadde lye lyonna awamu naye: 01GEN046.007 His sons, and his sons' sons with him, his daughters, and his sons' daughters, and all his seed brought he with him into Egypt. %%% batabani be n'abaana ba batabani be wamu naye, bawala be n'abawala ba batabani be, n'ezzadde lye lyonna be yatwala naye bwe yagenda mu Misiri. 01GEN046.008 And these are the names of the children of Israel, which came into Egypt, Jacob and his sons: Reuben, Jacob's firstborn. %%% N'amaanya g'abaana ba Isiraeri, abajja mu Misiri, Yakobo ne batabani be, ge gano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo. 01GEN046.009 And the sons of Reuben; Hanoch, and Phallu, and Hezron, and Carmi. %%% Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni; ne Kalumi. 01GEN046.010 And the sons of Simeon; Jemuel, and Jamin, and Ohad, and Jachin, and Zohar, and Shaul the son of a Canaanitish woman. %%% N'abaana ba Simyoni abasajja; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani. 01GEN046.011 And the sons of Levi; Gershon, Kohath, and Merari. %%% Ne batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali. 01GEN046.012 And the sons of Judah; Er, and Onan, and Shelah, and Pharez, and Zarah: but Er and Onan died in the land of Canaan. And the sons of Pharez were Hezron and Hamul. %%% Ne batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi, ne Zeera: naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli. 01GEN046.013 And the sons of Issachar; Tola, and Phuvah, and Job, and Shimron. %%% Ne batabani ba Isakaali; Tola, ne Puva, ne Yobu, ne Simulooni. 01GEN046.014 And the sons of Zebulun; Sered, and Elon, and Jahleel. %%% Ne batabani ba Zebbulooni; Seredi, ne Eroni, ne Yaleeri. 01GEN046.015 These be the sons of Leah, which she bare unto Jacob in Padanaram, with his daughter Dinah: all the souls of his sons and his daughters were thirty and three. %%% Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, awamu n'omuwala we Dina: abaana be bonna abasajja n'abakazi baali obulamu asatu mu busatu. 01GEN046.016 And the sons of Gad; Ziphion, and Haggi, Shuni, and Ezbon, Eri, and Arodi, and Areli. %%% Ne batabani ba Gaadi: Zifiyooni, ne Kagi, Suni, ne Ezeboni, Eri, ne Alodi, ne Aleri 01GEN046.017 And the sons of Asher; Jimnah, and Ishuah, and Isui, and Beriah, and Serah their sister: and the sons of Beriah; Heber, and Malchiel. %%% Ne batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe: ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri. 01GEN046.018 These are the sons of Zilpah, whom Laban gave to Leah his daughter, and these she bare unto Jacob, even sixteen souls. %%% Abo be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya omwana we, era abo be yazaalira Yakobo, bwe bulamu ekkumi n'omukaaga. 01GEN046.019 The sons of Rachel Jacob's wife; Joseph, and Benjamin. %%% Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo; Yusufu ne Benyamini. 01GEN046.020 And unto Joseph in the land of Egypt were born Manasseh and Ephraim, which Asenath the daughter of Potipherah priest of On bare unto him. %%% Era Yusufu n'azaalirwa mu nsi y'e Misiri Manase ne Efulayimu, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni be yamuzaalira. 01GEN046.021 And the sons of Benjamin were Belah, and Becher, and Ashbel, Gera, and Naaman, Ehi, and Rosh, Muppim, and Huppim, and Ard. %%% Ne batabani ba Benyamini; Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, Eki, ne Losi, Mupimu, ne Kupimu, ne Aludi. 01GEN046.022 These are the sons of Rachel, which were born to Jacob: all the souls were fourteen. %%% Abo be batabani ba Laakeeri, abaazaalirwa Yakobo: obulamu bwonna bwali kkumi na buna. 01GEN046.023 And the sons of Dan; Hushim. %%% Ne batabani ba Ddaani; Kusimu. 01GEN046.024 And the sons of Naphtali; Jahzeel, and Guni, and Jezer, and Shillem. %%% Ne batabani ba Nafutaali; Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu. 01GEN046.025 These are the sons of Bilhah, which Laban gave unto Rachel his daughter, and she bare these unto Jacob: all the souls were seven. %%% Abo be batabani ba Bira, Labbaani gwe yawa Laakeeri omwana we, era abo be yazaalira Yakobo: obulamu bwonna bwali musanvu. 01GEN046.026 All the souls that came with Jacob into Egypt, which came out of his loins, besides Jacob's sons' wives, all the souls were threescore and six; %%% Obulamu bwonna obwayingira mu Misiri awamu ne Yakobo, obwava mu ntumbwe ze, obutassaako bakazi b'abaana ba Yakobo, obulamu bwonna bwali nkaaga mu mukaaga; 01GEN046.027 And the sons of Joseph, which were born him in Egypt, were two souls: all the souls of the house of Jacob, which came into Egypt, were threescore and ten. %%% ne batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali bulamu bubiri: obulamu bwonna obw'ennyumba ya Yakobo, obwayingira mu Misiri, bwali nsanvu. 01GEN046.028 And he sent Judah before him unto Joseph, to direct his face unto Goshen; and they came into the land of Goshen. %%% N'atuma Yuda okumukulembera eri Yusufu, okulaga ekkubo mu maaso ge erigenda mu Goseni; ne batuuka mu nsi y'e Goseni. 01GEN046.029 And Joseph made ready his chariot, and went up to meet Israel his father, to Goshen, and presented himself unto him; and he fell on his neck, and wept on his neck a good while. %%% Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; ne yeeraga gy'ali, n'amugwa mu bulago, n'akaaba amaziga mu bulago bwe ekiseera ekinene. 01GEN046.030 And Israel said unto Joseph, Now let me die, since I have seen thy face, because thou art yet alive. %%% Isiraeri n’agamba Yusufu nti Kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go, ng'okyali mulamu. 01GEN046.031 And Joseph said unto his brethren, and unto his father's house, I will go up, and shew Pharaoh, and say unto him, My brethren, and my father's house, which were in the land of Canaan, are come unto me; %%% Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti N'ayambuka ne mbuulira Falaawo ne mmugamba nti Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi Kanani, bazze ewange: 01GEN046.032 And the men are shepherds, for their trade hath been to feed cattle; and they have brought their flocks, and their herds, and all that they have. %%% era abasajja be basumba, kubanga baalundanga nte; era baleese endiga zaabwe n'ente zaabwe ne byonna bye balina. 01GEN046.033 And it shall come to pass, when Pharaoh shall call you, and shall say, What is your occupation? %%% Awo olulituuka Falaawo bw'alibayita bw'alyogera nti Emirimu gyammwe ki? 01GEN046.034 That ye shall say, Thy servants' trade hath been about cattle from our youth even until now, both we, and also our fathers: that ye may dwell in the land of Goshen; for every shepherd is an abomination unto the Egyptians. %%% Mwogeranga nti Abaddu bo baalundanga nte okuva mu buto bwaffe okutuusa leero, ffe era ne bajjajja baffe: mulyoke mutuule mu nsi y'e Goseni: kubanga buli musumba kya muzizo eri Abamisiri. 01GEN047.001 Then Joseph came and told Pharaoh, and said, My father and my brethren, and their flocks, and their herds, and all that they have, are come out of the land of Canaan; and, behold, they are in the land of Goshen. %%% Yusufu n'alyoka ayingira n'abuulira Falaawo n'ayogera nti Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse bavudde mu nsi ya Kanani; era, laba, bali mu nsi y'e Goseni. 01GEN047.002 And he took some of his brethren, even five men, and presented them unto Pharaoh. %%% N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera Falaawo. 01GEN047.003 And Pharaoh said unto his brethren, What is your occupation? And they said unto Pharaoh, Thy servants are shepherds, both we, and also our fathers. %%% Falaawo n'agamba baganda be nti Emirimu gyammwe ki? Ne bagamba Falaawo nti Abaddu bo basumba, ffe era ne bajjajja baffe. 01GEN047.004 They said moreover unto Pharaoh, For to sojourn in the land are we come; for thy servants have no pasture for their flocks; for the famine is sore in the land of Canaan: now therefore, we pray thee, let thy servants dwell in the land of Goshen. %%% Ne bagamba Falaawo nti Tuzze okutuula mu nsi; kubanga tewali muddo gwa bisibo bya baddu bo; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani: kale nno kaakano, tukwegayiridde, abaddu bo batuule mu nsi y'e Goseni 01GEN047.005 And Pharaoh spake unto Joseph, saying, Thy father and thy brethren are come unto thee: %%% Falaawo n'agamba Yusufu nti Kitaawo ne baganda bo bazze ewuwo: 01GEN047.006 The land of Egypt is before thee; in the best of the land make thy father and brethren to dwell; in the land of Goshen let them dwell: and if thou knowest any men of activity among them, then make them rulers over my cattle. %%% ensi y'e Misiri eri mu maaso go; awasinga obulungi mu nsi tuuza awo kitaawo ne baganda bo; batuule mu nsi y'e Goseni: era oba nga omanyi ku bo ab'amagezi, kale bafuule abakulu b'ente zange. 01GEN047.007 And Joseph brought in Jacob his father, and set him before Pharaoh: and Jacob blessed Pharaoh. %%% Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amuteeka mu maaso ga Falaawo: Yakobo n'asabira Falaawo omukisa. 01GEN047.008 And Pharaoh said unto Jacob, How old art thou? %%% Falaawo n'agamba Yakobo nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwo ziri mmeka? 01GEN047.009 And Jacob said unto Pharaoh, The days of the years of my pilgrimage are an hundred and thirty years: few and evil have the days of the years of my life been, and have not attained unto the days of the years of the life of my fathers in the days of their pilgrimage. %%% Yakobo n'agamba Falaawo nti Ennaku ez'emyaka egy'okutambula kwange ziri myaka kikumi mu asatu: ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange ziri ntono era mbi, so teziwera nnaku za myaka gya bulamu bwa bajjajja bange mu nnaku ez'okutambula kwabwe. 01GEN047.010 And Jacob blessed Pharaoh, and went out from before Pharaoh. %%% Yakobo n'asabira Falaawo omukisa, n'ava mu maaso ga Falaawo. 01GEN047.011 And Joseph placed his father and his brethren, and gave them a possession in the land of Egypt, in the best of the land, in the land of Rameses, as Pharaoh had commanded. %%% Yusufu n'atuuza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu nsi, mu nsi ya Lamesesi, nga Falaawo bwe yalagira. 01GEN047.012 And Joseph nourished his father, and his brethren, and all his father's household, with bread, according to their families. %%% Yusufu n'aliisa kitaawe ne baganda be n'ekika kyonna ekya kitaawe n'emmere, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali. 01GEN047.013 And there was no bread in all the land; for the famine was very sore, so that the land of Egypt and all the land of Canaan fainted by reason of the famine. %%% Ne wataba mmere mu nsi yonna: kubanga enjala yali nnyingi nnyo, ensi y'e Misiri n'ensi ya Kanani n'okuzirika ne zizirika olw'enjala. 01GEN047.014 And Joseph gathered up all the money that was found in the land of Egypt, and in the land of Canaan, for the corn which they bought: and Joseph brought the money into Pharaoh's house. %%% Yusufu n'akuŋŋaaaya effeeza yonna eyalabikira mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, ng'abaguza eŋŋaano: Yusufu n'aleeta effeeza mu nnyumba ya Falaawo. 01GEN047.015 And when money failed in the land of Egypt, and in the land of Canaan, all the Egyptians came unto Joseph, and said, Give us bread: for why should we die in thy presence? for the money faileth. %%% Effeeza yonna bwe yaggwa mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, Abamisiri bonna ne bajjira Yusufu ne boogera nti Tuwe emmere: kubanga kyetunaava tufiira mu maaso go kiki? kubanga effeeza etubuze. 01GEN047.016 And Joseph said, Give your cattle; and I will give you for your cattle, if money fail. %%% Yusufu n'ayogera nti Muweeyo ensolo zammwe; nange n'abaweeranga ensolo zammwe, effeeza bw'eribabula. 01GEN047.017 And they brought their cattle unto Joseph: and Joseph gave them bread in exchange for horses, and for the flocks, and for the cattle of the herds, and for the asses: and he fed them with bread for all their cattle for that year. %%% Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe Yusufu n'abawaanyisa emmere n'embalaasi n'endiga n'ente n'endogoyi: n'abaliisiza emmere omwaka ogwo ng'abawaanyisiza ensolo zaabwe zonna. 01GEN047.018 When that year was ended, they came unto him the second year, and said unto him, We will not hide it from my lord, how that our money is spent; my lord also hath our herds of cattle; there is not ought left in the sight of my lord, but our bodies, and our lands: %%% Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bamujjira mu mwaka ogw'okubiri, ne bamugamba nti Tetuukise mukama wange ng'effeeza yaffe yonna yaggwaawo; n'ebisibo by'ensolo bya mukama wange: tewali ekisigaddewo mu maaso ga mukama wange, wabula emibiri gyaffe n'ebyalo byaffe: 01GEN047.019 Wherefore shall we die before thine eyes, both we and our land? buy us and our land for bread, and we and our land will be servants unto Pharaoh: and give us seed, that we may live, and not die, that the land be not desolate. %%% kyetunaava tufiira mu maaso go kiki, ffe n'ensi yaffe era? tugule ffe n'ensi yaffe n'emmere, naffe n'ensi yaffe tuliba baddu ba Falaawo: tuwe ensigo, tube abalamu tuleme okufa, ensi ereme okuzika. 01GEN047.020 And Joseph bought all the land of Egypt for Pharaoh; for the Egyptians sold every man his field, because the famine prevailed over them: so the land became Pharaoh's. %%% Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ennimiro ye, kubanga enjala yabayingirira: ensi n'efuuka ya Falaawo. 01GEN047.021 And as for the people, he removed them to cities from one end of the borders of Egypt even to the other end thereof. %%% N'abantu n’abajjulula n'abassa mu bibuga okuva ku nsalo y'e Misiri weekoma okutuusa ku nkomerero yaayo endala. 01GEN047.022 Only the land of the priests bought he not; for the priests had a portion assigned them of Pharaoh, and did eat their portion which Pharaoh gave them: wherefore they sold not their lands. %%% Ensi ya bakabona yokka gy’ataagula: kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga omugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kyebaava balema okutunda ensi yaabwe. 01GEN047.023 Then Joseph said unto the people, Behold, I have bought you this day and your land for Pharaoh: lo, here is seed for you, and ye shall sow the land. %%% Yusufu n'alyoka agamba abantu nti Laba, ngulidde leero Falaawo mmwe n'ensi yammwe: laba, ensigo zammwe ziizino, munaasiga ensi. 01GEN047.024 And it shall come to pass in the increase, that ye shall give the fifth part unto Pharaoh, and four parts shall be your own, for seed of the field, and for your food, and for them of your households, and for food for your little ones. %%% Era olulituuka bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu eky'okutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, okuba eby'okusiga ennimiro n'okuba emmere yammwe era n'ab'omu nnyumba zammwe n'okuba emmere ey'abaana bammwe abato. 01GEN047.025 And they said, Thou hast saved our lives: let us find grace in the sight of my lord, and we will be Pharaoh's servants. %%% Ne boogera nti Otuwonyezza mu kufa: tulabe ekisa mu maaso ga mukama wange, era tuliba baddu ba Falaawo. 01GEN047.026 And Joseph made it a law over the land of Egypt unto this day, that Pharaoh should have the fifth part; except the land of the priests only, which became not Pharaoh's. %%% Yusufu n'ateeka etteeka eryo ery'ensi y'e Misiri ne leero, Falaawo okuweebwanga ekitundu eky'okutaano; naye ensi ya bakabona yokka ye etaafuuka ya Falaawo. 01GEN047.027 And Israel dwelt in the land of Egypt, in the country of Goshen; and they had possessions therein, and grew, and multiplied exceedingly. %%% Isiraeri n'atuula mu asi y'e Misiri, mu nsi y'e Goseni; ne bafunira omwo ebintu, ne baala, ne beeyongera nnyo. 01GEN047.028 And Jacob lived in the land of Egypt seventeen years: so the whole age of Jacob was an hundred forty and seven years. %%% Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu mu nsi y'e Misiri: bwe zityo ennaku za Yakobo, emyaka egy'obulamu bwe, zaali myaka kikumi mu ana mu musanvu. 01GEN047.029 And the time drew nigh that Israel must die: and he called his son Joseph, and said unto him, If now I have found grace in thy sight, put, I pray thee, thy hand under my thigh, and deal kindly and truly with me; bury me not, I pray thee, in Egypt: %%% Ebiro ne bitera okutuuka Isiraeri by'agenda okufiiramu: n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti Obanga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, nkwegayiridde, teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange, onkolere eby'ekisa n'eby'amazima; tonziikanga, nkwegayiridde, mu Misiri: 01GEN047.030 But I will lie with my fathers, and thou shalt carry me out of Egypt, and bury me in their buryingplace. And he said, I will do as thou hast said. %%% naye bwe ndyebakira awamu ne bajjajja bange, onsitule onziye mu Misiri, onziike mu kifo kyabwe eky'okuziikangamu. N'ayogera nti Ndikola nga bw'oyogedde. 01GEN047.031 And he said, Swear unto me. And he sware unto him. And Israel bowed himself upon the bed's head. %%% N'ayogera nti Ndayirira: n'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe. 01GEN048.001 And it came to pass after these things, that one told Joseph, Behold, thy father is sick: and he took with him his two sons, Manasseh and Ephraim. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti Laba, kitaawo alwadde: n'atwala naye abaana be abasajja bombi, Manase ne Efulayimu. 01GEN048.002 And one told Jacob, and said, Behold, thy son Joseph cometh unto thee: and Israel strengthened himself, and sat upon the bed. %%% Ne bagamba Yakobo nti Laba, omwana wo Yusufu ajja gy'oli: Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda. 01GEN048.003 And Jacob said unto Joseph, God Almighty appeared unto me at Luz in the land of Canaan, and blessed me, %%% Yakobo n'agamba Yusufu nti Katonda Omuyinza w'ebintu byonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani, n'ampa omukisa, 01GEN048.004 And said unto me, Behold, I will make thee fruitful, and multiply thee, and I will make of thee a multitude of people; and will give this land to thy seed after thee for an everlasting possession. %%% n'aŋŋamba nti Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe. 01GEN048.005 And now thy two sons, Ephraim and Manasseh, which were born unto thee in the land of Egypt before I came unto thee into Egypt, are mine; as Reuben and Simeon, they shall be mine. %%% Ne kaakano abaana bo abasajja bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnakujjira mu Misiri, bange; Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni se Simyoni. 01GEN048.006 And thy issue, which thou begettest after them, shall be thine, and shall be called after the name of their brethren in their inheritance. %%% N'ezzadde lyo, ly'onoozaalanga oluvannyuma lw'abo, linaabanga liryo: banaatuumibwanga erinnya lya baganda baabwe mu busika bwabwe. 01GEN048.007 And as for me, when I came from Padan, Rachel died by me in the land of Canaan in the way, when yet there was but a little way to come unto Ephrath: and I buried her there in the way of Ephrath; the same is Bethlehem. %%% Nange, bwe nnava mu Padani, Laakeeri n'anfaako mu nsi ya Kanani mu kkubo, nga wakyaliyo ebbanga ddeneko okutuuka ku Efulasi: ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu). 01GEN048.008 And Israel beheld Joseph's sons, and said, Who are these? %%% Isiraeri n'alaba abaana ba Yusufu, n'ayogera nti Bano be baani? 01GEN048.009 And Joseph said unto his father, They are my sons, whom God hath given me in this place. And he said, Bring them, I pray thee, unto me, and I will bless them. %%% Yusufu n'agamba kitaawe nti Be baana bange Katonda be yampeera wano. N'ayogera nti Baleete, nkwegayiridde, nange naabasabira omukisa. 01GEN048.010 Now the eyes of Israel were dim for age, so that he could not see. And he brought them near unto him; and he kissed them, and embraced them. %%% Era amaaso ga Isiraeri gaali gazibye olw'obukadde, n'okuyinza teyayinza kulaba. N'abamusembereza; n'abanywegera n'abawambaatira. 01GEN048.011 And Israel said unto Joseph, I had not thought to see thy face: and, lo, God hath shewed me also thy seed. %%% Isiraeri n'agamba Yusufu nti Nali sirowooza kulaba maaso go: era, laba, Katonda andabisizza n'ezzadde lyo. 01GEN048.012 And Joseph brought them out from between his knees, and he bowed himself with his face to the earth. %%% Yusufu n'abaggya mu maviivi ge wakati; n'avuunama amaaso ge. 01GEN048.013 And Joseph took them both, Ephraim in his right hand toward Israel's left hand, and Manasseh in his left hand toward Israel's right hand, and brought them near unto him. %%% Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiareri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali. 01GEN048.014 And Israel stretched out his right hand, and laid it upon Ephraim's head, who was the younger, and his left hand upon Manasseh's head, guiding his hands wittingly; for Manasseh was the firstborn. %%% Isiraeri n'agolola omukono gwe ogwa ddyo, n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu, ye muto, n'omukono gwe ogwa kkono ku mutwe gwa Manase, ng'atereeza emikono gye ng'amanyi; kubanga Manase ye yali omubereberye. 01GEN048.015 And he blessed Joseph, and said, God, before whom my fathers Abraham and Isaac did walk, the God which fed me all my life long unto this day, %%% Nasabira Yusufu omukisa n'ayogera nti Katonda wa bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero, 01GEN048.016 The Angel which redeemed me from all evil, bless the lads; and let my name be named on them, and the name of my fathers Abraham and Isaac; and let them grow into a multitude in the midst of the earth.%%% malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi; n'erinnya lyange lituumibwenga ku bo, n'erinnya lya bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka; era bafuuke ekibiina ekinene wakati mu nsi. 01GEN048.017 And when Joseph saw that his father laid his right hand upon the head of Ephraim, it displeased him: and he held up his father's hand, to remove it from Ephraim's head unto Manasseh's head. %%% Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga: n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase. 01GEN048.018 And Joseph said unto his father, Not so, my father: for this is the firstborn; put thy right hand upon his head. %%% Yusufu n'agamba kitaawe nti Nedda, kitange: kubanga oyo ye mubereberye; ssa omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe. 01GEN048.019 And his father refused, and said, I know it, my son, I know it: he also shall become a people, and he also shall be great: but truly his younger brother shall be greater than he, and his seed shall become a multitude of nations. %%% Kitaawe n'agaana n'ayogera nti Mmanyi, mwana wange, mmanyi: era naye alifuuka ggwanga, era naye aliba mukulu: naye omwana waabo ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye liriba mawanga mangi. 01GEN048.020 And he blessed them that day, saying, In thee shall Israel bless, saying, God make thee as Ephraim and as Manasseh: and he set Ephraim before Manasseh. %%% N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Mu ggwe Isiraeri anaasabanga omukisa, ng'ayogera nti Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase: Efulayimu n'amusoosa Manase. 01GEN048.021 And Israel said unto Joseph, Behold, I die: but God shall be with you, and bring you again unto the land of your fathers. %%% Isiraeri n'agamba Yusufu nti Laba, nfa: naye Katonda anaabanga wamu nammwe, alibazza nate mu nsi ya bajjajja bammwe. 01GEN048.022 Moreover I have given to thee one portion above thy brethren, which I took out of the hand of the Amorite with my sword and with my bow. %%% Era nkuwadde ggwe omugabo gumu okusinga baganda bo, gwe nnaggya mu mukono gw'omu Amoli n'ekitala kyange n'omutego gwange. 01GEN049.001 And Jacob called unto his sons, and said, Gather yourselves together, that I may tell you that which shall befall you in the last days. %%% Yakobo n'ayita abaana be abasajja, n'ayogera nti Mukuŋŋaane ndyoke mbabuulire ebiribabaako mu nnaku ez'enkomerero. 01GEN049.002 Gather yourselves together, and hear, ye sons of Jacob; and hearken unto Israel your father. %%% Mukuŋŋaane, muwulire, mmwe abaana ba Yakobo; Muwulire Isiraeri kitammwe. 01GEN049.003 Reuben, thou art my firstborn, my might, and the beginning of my strength, the excellency of dignity, and the excellency of power: %%% Lewubeeni, ggwe oli mubereberye wange, buyinza bwange, era amaanyi gange mwe gasookera; Ekitiibwa ekisinga, n'obuyinza obusinga. 01GEN049.004 Unstable as water, thou shalt not excel; because thou wentest up to thy father's bed; then defiledst thou it: he went up to my couch. %%% Omulebevu ng'amazzi tolisinga; Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo: N'okigwagwawaza: yalinnya ku kiriri kyange. 01GEN049.005 Simeon and Levi are brethren; instruments of cruelty are in their habitations. %%% Simyoni ne Leevi baaluganda; Ebitala byabwe bya kulwanyisa bya maanyi. 01GEN049.006 O my soul, come not thou into their secret; unto their assembly, mine honour, be not thou united: for in their anger they slew a man, and in their selfwill they digged down a wall. %%% Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe; Ggwe ekitiibwa kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe; Kubanga olw'obusungu bwabwe batta omusajja, N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa. 01GEN049.007 Cursed be their anger, for it was fierce; and their wrath, for it was cruel: I will divide them in Jacob, and scatter them in Israel. %%% Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; N'obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima: Ndibaawula mu Yakobo, Ndibasaasaanya mu Isiraeri. 01GEN049.008 Judah, thou art he whom thy brethren shall praise: thy hand shall be in the neck of thine enemies; thy father's children shall bow down before thee. %%% Yuda, ggwe baganda bo banaakutenderezanga: Omukono gwo gunaabanga ku bulago bw'abalabe bo; Abaana ba kitaawo banaakutamanga mu maaso go. 01GEN049.009 Judah is a lion's whelp: from the prey, my son, thou art gone up: he stooped down, he couched as a lion, and as an old lion; who shall rouse him up? %%% Yuda ye mwana w'empologoma; Olinnye mwana wange, ng'ovudde ku muyiggo: Yakutama, yabwama ng'empologoma, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamubuusa? 01GEN049.010 The sceptre shall not depart from Judah, nor a lawgiver from between his feet, until Shiloh come; and unto him shall the gathering of the people be. %%% Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda, Newakubadde omuggo gw'oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye, Okutuusa Siiro lw'alijja; N'oyo abantu gwe banaawuliranga. 01GEN049.011 Binding his foal unto the vine, and his ass's colt unto the choice vine; he washed his garments in wine, and his clothes in the blood of grapes: %%% Ng'asiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu, N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi; Yayoza ebyambalo bye n'omwenge, N'engoye ze n'omusaayi gw'ezzabbibu: 01GEN049.012 His eyes shall be red with wine, and his teeth white with milk. %%% Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge, N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata. 01GEN049.013 Zebulun shall dwell at the haven of the sea; and he shall be for an haven of ships; and his border shall be unto Zidon. %%% Zebbulooni anaatuulanga ku ttale ly'ennyanja: Anaabanga omwalo ogw'amaato; N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni. 01GEN049.014 Issachar is a strong ass couching down between two burdens: %%% Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi, Egalamira awali ebisibo by'endiga: 01GEN049.015 And he saw that rest was good, and the land that it was pleasant; and bowed his shoulder to bear, and became a servant unto tribute. %%% N'alaba okuwummula nga kulungi, N'ensi nga ya kwesiima; N'akutamya ekibegabega kye okusitula, N'afuuka omuddu alagirwa emirimu. 01GEN049.016 Dan shall judge his people, as one of the tribes of Israel. %%% Ddaani anaasaliranga abantu be emisango, Ye nga kye kika mu bika bya Isiraeri. 01GEN049.017 Dan shall be a serpent by the way, an adder in the path, that biteth the horse heels, so that his rider shall fall backward. %%% Ddaani anaabanga omusota mu luguudo, Embalasaasa mu kkubo, Eruma embalaasi ebinuulo, N'okugalanjuka ey'ebagadde n'agalanjuka. 01GEN049.018 I have waited for thy salvation, O LORD. %%% Nindiridde obulokozi bwo, ai Mukama. 01GEN049.019 Gad, a troop shall overcome him: but he shall overcome at the last. %%% Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza: Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe. 01GEN049.020 Out of Asher his bread shall be fat, and he shall yield royal dainties. %%% Mu Aseri emmere ye eneebanga ngimu, Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka. 01GEN049.021 Naphtali is a hind let loose: he giveth goodly words. %%% Nafutaali ye mpeewo esumuluddwa: Ayogera ebigambo ebirungi. 01GEN049.022 Joseph is a fruitful bough, even a fruitful bough by a well; whose branches run over the wall: %%% Yusufu lye ttabi eribala ennyo. Ettabi eribala ennyo awali oluzzi; Abaana be babuna bbugwe. 01GEN049.023 The archers have sorely grieved him, and shot at him, and hated him: %%% Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo, Baamulasa, baamuyigganya: 01GEN049.024 But his bow abode in strength, and the arms of his hands were made strong by the hands of the mighty God of Jacob; (from thence is the shepherd, the stone of Israel:) %%% Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gy'engalo ze ne giweebwa amaanyi, Eri emikono gy'Omuyinza wa Yakobo, (Omuva omusumba, ejjinja lya Isiraeri,) 01GEN049.025 Even by the God of thy father, who shall help thee; and by the Almighty, who shall bless thee with blessings of heaven above, blessings of the deep that lieth under, blessings of the breasts, and of the womb: %%% Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva mu nnyanja egalamira wansi, N'omukisa oguva mu mabeere, n'oguva mu lubuto. 01GEN049.026 The blessings of thy father have prevailed above the blessings of my progenitors unto the utmost bound of the everlasting hills: they shall be on the head of Joseph, and on the crown of the head of him that was separate from his brethren. %%% Omukisa gwa kitaawo Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajja bange, Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero: ey'ensozi ezitaliggwaawo: Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu. 01GEN049.027 Benjamin shall ravin as a wolf: in the morning he shall devour the prey, and at night he shall divide the spoil. %%% Benyamini gwe musege ogunyaga: Enkya anaalyanga omuyiggo, Era akawungeezi anaagabanga omunyago. 01GEN049.028 All these are the twelve tribes of Israel: and this is it that their father spake unto them, and blessed them; every one according to his blessing he blessed them. %%% Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri: n'ebyo kitaabwe bye yababuulira n'abasabira omukisa; buli muntu ng'omukisa gwe bwe gwali bwe yabasabira bw'atyo omukisa. 01GEN049.029 And he charged them, and said unto them, I am to be gathered unto my people: bury me with my fathers in the cave that is in the field of Ephron the Hittite, %%% N'abakuutira, n’abagamba nti ŋŋenda okutwalibwa awali abantu bange: munziikanga wamu ne bajjajja bange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 01GEN049.030 In the cave that is in the field of Machpelah, which is before Mamre, in the land of Canaan, which Abraham bought with the field of Ephron the Hittite for a possession of a buryingplace. %%% mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, eri mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro okuba obutaka obw'okuziikangamu: 01GEN049.031 There they buried Abraham and Sarah his wife; there they buried Isaac and Rebekah his wife; and there I buried Leah. %%% eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; eyo gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya: 01GEN049.032 The purchase of the field and of the cave that is therein was from the children of Heth. %%% ennimiro n'empuku egirimu, abaana ba Keesi gye baabaguza. 01GEN049.033 And when Jacob had made an end of commanding his sons, he gathered up his feet into the bed, and yielded up the ghost, and was gathered unto his people. %%% Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'ata obulamu, n'atwalibwa eri abantu be. 01GEN050.001 And Joseph fell upon his father's face, and wept upon him, and kissed him. %%% Yusufu n'agwa ku maaso ga kitaawe, n'amukaabirako, n'amunywegera: 01GEN050.002 And Joseph commanded his servants the physicians to embalm his father: and the physicians embalmed Israel. %%% Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe: abasawo ne bakalirira Isiraeri. 01GEN050.003 And forty days were fulfilled for him; for so are fulfilled the days of those which are embalmed: and the Egyptians mourned for him threescore and ten days. %%% Ne bamala ennaku ana nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwe zenkana okuzimala: Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bakumye olumbe ku bubwe. 01GEN050.004 And when the days of his mourning were past, Joseph spake unto the house of Pharaoh, saying, If now I have found grace in your eyes, speak, I pray you, in the ears of Pharaoh, saying, %%% Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, mwogerere mu matu ga Falaawo nti 01GEN050.005 My father made me swear, saying, Lo, I die: in my grave which I have digged for me in the land of Canaan, there shalt thou bury me. Now therefore let me go up, I pray thee, and bury my father, and I will come again. %%% Kitange yandayiza ng'ayogera nti Laba, nfa: mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanani mw'olinziika. Kale kaakano nkwegayiridde, nnyambuke, nziike kitange, era ndikomawo. 01GEN050.006 And Pharaoh said, Go up, and bury thy father, according as he made thee swear. %%% Falaawo n'ayogera nti Yambuka oziike kitaawo nga bwe yakulayiza. 01GEN050.007 And Joseph went up to bury his father: and with him went up all the servants of Pharaoh, the elders of his house, and all the elders of the land of Egypt, %%% Yusufu n'ayambuka okuziika kitaawe: ne wagenda naye abaddu bonna aba Falaawo, abakadde ab'ennyumba ye n'abakadde bonna ab'ensi y'e Misiri, 01GEN050.008 And all the house of Joseph, and his brethren, and his father's house: only their little ones, and their flocks, and their herds, they left in the land of Goshen. %%% n'ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be n'ennyumba ya kitaawe: abaana baabwe abato, n'endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu nsi y'e Goseni. 01GEN050.009 And there went up with him both chariots and horsemen: and it was a very great company. %%% Ne wayambuka naye amagaali era n'abeebagadde ku mbalaasi: ne kiba ekibiina ekinene ennyo. 01GEN050.010 And they came to the threshingfloor of Atad, which is beyond Jordan, and there they mourned with a great and very sore lamentation: and he made a mourning for his father seven days. %%% Ne batuuka ku gguliro lya Atadi, eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi binene nnyo: n'amala ennaku musanvu, ng'akaabira kitaawe. 01GEN050.011 And when the inhabitants of the land, the Canaanites, saw the mourning in the floor of Atad, they said, This is a grievous mourning to the Egyptians: wherefore the name of it was called Abelmizraim, which is beyond Jordan. %%% N'abo abaatuulanga mu nsi, Abakanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguliro lya Atadi, ne boogera nti Okukaaba kuno kungi eri Abamisiri: kyeryava lituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani. 01GEN050.012 And his sons did unto him according as he commanded them: %%% Abaana be ne bamukolera nga bwe yabalagira: 01GEN050.013 For his sons carried him into the land of Canaan, and buried him in the cave of the field of Machpelah, which Abraham bought with the field for a possession of a buryingplace of Ephron the Hittite, before Mamre. %%% bwe kityo abaana be ne bamusitula ne bamutwala mu nsi ya Kanani, ne bamuziika mu mpuku ey'omu nnimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula awamu n'ennimiro, okuba obutaka okuziikangamu, eri Efulooni Omukiiti, eri mu maaso ga Mamule. 01GEN050.014 And Joseph returned into Egypt, he, and his brethren, and all that went up with him to bury his father, after he had buried his father. %%% Yusufu n'addayo mu Misiri ye ne baganda be ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe, bwe yamala okuziika kitaawe. 01GEN050.015 And when Joseph's brethren saw that their father was dead, they said, Joseph will peradventure hate us, and will certainly requite us all the evil which we did unto him. %%% Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe yafa, ne boogera nti Mpozzi Yusufu agenda okutukyawa, n'okutuwalanirako ddala obubi bwonna bwe twamukola. 01GEN050.016 And they sent a messenger unto Joseph, saying, Thy father did command before he died, saying, %%% Ne batumira Yusufu nga boogera nti Kitaatvo yalagira bwe yali nga tannafa ng'ayogera nti 01GEN050.017 So shall ye say unto Joseph, Forgive, I pray thee now, the trespass of thy brethren, and their sin; for they did unto thee evil: and now, we pray thee, forgive the trespass of the servants of the God of thy father. And Joseph wept when they spake unto him. %%% Bwe mutyo bwe muligamba Yusufu nti Nkwegayiridde kaakano, sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi: ne kaakano, tukwegayiridde, sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo. Yusufu n'akaaba amaziga bwe baayogera naye. 01GEN050.018 And his brethren also went and fell down before his face; and they said, Behold, we be thy servants.%%% Ne baganda be n'okugenda ne bagenda ne bavuunama mu maaso ge; ne boogera nti Laba, tuli baddu bo. 01GEN050.019 And Joseph said unto them, Fear not: for am I in the place of God? %%% Yusufu n'abagamba nti Temutya: nze ndi mu kifo kya Katonda? 01GEN050.020 But as for you, ye thought evil against me; but God meant it unto good, to bring to pass, as it is this day, to save much people alive. %%% Nammwe, mwali mwagala okundeetako ebibi; naye Katonda yali ayagala okundeetako ebirungi, nga era bwe kibadde, okuwonya abantu abangi baleme okufa. 01GEN050.021 Now therefore fear ye not: I will nourish you, and your little ones. And he comforted them, and spake kindly unto them. %%% Kale kaakano temutya: nnaabaliisanga mmwe n'abaana bammwe abato. Naabasanyusa, nnaabagamba eby'ekisa. 01GEN050.022 And Joseph dwelt in Egypt, he, and his father's house: and Joseph lived an hundred and ten years. %%% Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe: Yusufu n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 01GEN050.023 And Joseph saw Ephraim's children of the third generation: the children also of Machir the son of Manasseh were brought up upon Joseph's knees. %%% Yusufu n’alaba abaana ba Efulayimu bannakabirye: era n'abaana ba Makiri omwana wa Manase baazaalirwa ku maviivi ga Yusufu. 01GEN050.024 And Joseph said unto his brethren, I die: and God will surely visit you, and bring you out of this land unto the land which he sware to Abraham, to Isaac, and to Jacob. %%% Yusufu n'agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n'okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. 01GEN050.025 And Joseph took an oath of the children of Israel, saying, God will surely visit you, and ye shall carry up my bones from hence. %%% Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira, nammwe mulitwala amagumba gange nga mugaggya muno. 01GEN050.026 So Joseph died, being an hundred and ten years old: and they embalmed him, and he was put in a coffin in Egypt. %%% Bw'atyo Yusufu n'afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi: ne bamukalirira; ne bamuteeka mu ssanduuko ey'okuziikamu mu Misiri. 02EXO001.001 Now these are the names of the children of Israel, which came into Egypt; every man and his household came with Jacob. %%% Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaatuuka mu Misiri; buli muntu n'ennyumba ye n'ajja awamu ne Yakobo. 02EXO001.002 Reuben, Simeon, Levi, and Judah, %%% Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda; 02EXO001.003 Issachar, Zebulun, and Benjamin, %%% Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini; 02EXO001.004 Dan, and Naphtali, Gad, and Asher. %%% Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. 02EXO001.005 And all the souls that came out of the loins of Jacob were seventy souls: for Joseph was in Egypt already. %%% Abantu bonna abaava mu ntumbwe za Yakobo ne baba emyoyo nsanvu: naye Yusufu yali ng'amaze okubeera mu Misiri. 02EXO001.006 And Joseph died, and all his brethren, and all that generation. %%% Yusufu n'afa, ne baganda be bonna, n'emirembe giri gyonna. 02EXO001.007 And the children of Israel were fruitful, and increased abundantly, and multiplied, and waxed exceeding mighty; and the land was filled with them. %%% Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo. 02EXO001.008 Now there arose up a new king over Egypt, which knew not Joseph. %%% Awo ne walya kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 02EXO001.009 And he said unto his people, Behold, the people of the children of Israel are more and mightier than we: %%% N'abagamba abantu be nti Laba, abantu b'abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe: 02EXO001.010 Come on, let us deal wisely with them; lest they multiply, and it come to pass, that, when there falleth out any war, they join also unto our enemies, and fight against us, and so get them up out of the land. %%% kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe, okulwana naffe, okugolokoka okuva mu nsi. 02EXO001.011 Therefore they did set over them taskmasters to afflict them with their burdens. And they built for Pharaoh treasure cities, Pithom and Raamses. %%% Kyebaava babateekako abakoza okubabonyaabonya n'emigugu. Ne bamuzimbira Falaawo ebibuga eby'amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 02EXO001.012 But the more they afflicted them, the more they multiplied and grew. And they were grieved because of the children of Israel. %%% Naye nga bwe beeyongera okubabonyaabonya, bwe batyo bo bwe beeyongera obungi n'okubuna. Ne banakuwala olw'abaana ba Isiraeri. 02EXO001.013 And the Egyptians made the children of Israel to serve with rigour: %%% Abamisiri ne babakoza emirimu abaana ba Isiraeri n'amaanyi: 02EXO001.014 And they made their lives bitter with hard bondage, in morter, and in brick, and in all manner of service in the field: all their service, wherein they made them serve, was with rigour. %%% ne bakaayisa obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n'ebbumba n'amatoffaali, era n'obuddu bwonna obw'omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n'amaanyi. 02EXO001.015 And the king of Egypt spake to the Hebrew midwives, of which the name of the one was Shiphrah, and the name of the other Puah: %%% Kabaka w’e Misiri n'abagamba abazaalisa Abaebbulaniya, erinnya ly'omu Sifira, erinnya ly'ow'okubiri Puwa: 02EXO001.016 And he said, When ye do the office of a midwife to the Hebrew women, and see them upon the stools; if it be a son, then ye shall kill him: but if it be a daughter, then she shall live. %%% n'ayogera nti Bwe mubakolanga abakazi Abaebbulaniya emirimu egy'obuzaalisa, bwe mubalabanga nga bali ku ntebe; omwana bw'abanga ow'obulenzi, mumuttanga; naye bw'abanga ow'obuwala, abeeranga mulamu. 02EXO001.017 But the midwives feared God, and did not as the king of Egypt commanded them, but saved the men children alive. %%% Naye abazaalisa ne bamutya Katonda, so kebaakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, naye baabakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu. 02EXO001.018 And the king of Egypt called for the midwives, and said unto them, Why have ye done this thing, and have saved the men children alive? %%% Kabaka w'e Misiri n'abayita abazaalisa, n'abagamba nti Kiki ekibakoza ekigambo ekyo, ne mubakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu? 02EXO001.019 And the midwives said unto Pharaoh, Because the Hebrew women are not as the Egyptian women; for they are lively, and are delivered ere the midwives come in unto them. %%% Abazaalisa ne bamugamba Falaawo nti Kubanga abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga balamu, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga bamaze okuzaala. 02EXO001.020 Therefore God dealt well with the midwives: and the people multiplied, and waxed very mighty. %%% Katonda n'akola bulungi abazaalisa: abantu ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo. 02EXO001.021 And it came to pass, because the midwives feared God, that he made them houses. %%% Awo kubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana. 02EXO001.022 And Pharaoh charged all his people, saying, Every son that is born ye shall cast into the river, and every daughter ye shall save alive. %%% Falaawo n'alagira abantu be bonna n'ayogera nti Buli mulenzi alizaalibwa mumusuulanga mu mugga, buli muwala mumulekanga. 02EXO002.001 And there went a man of the house of Levi, and took to wife a daughter of Levi. %%% Omuntu ow'omu nnyumba ya Levi n’agenda n'awasa muwala wa Levi. 02EXO002.002 And the woman conceived, and bare a son: and when she saw him that he was a goodly child, she hid him three months. %%% Omukazi n'aba olubuto n’azaala omwana wa bulenzi: naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu. 02EXO002.003 And when she could not longer hide him, she took for him an ark of bulrushes, and daubed it with slime and with pitch, and put the child therein; and she laid it in the flags by the river's brink. %%% Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'amukolera ekibaya eky’ebitoogo, n'akisiiga ebitosi n’envumbo; omwana n'amuteeka munda; n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga. 02EXO002.004 And his sister stood afar off, to wit what would be done to him. %%% Mwannyinna n’ayimirira wala amanye ekinaamubeerako. 02EXO002.005 And the daughter of Pharaoh came down to wash herself at the river; and her maidens walked along by the river's side; and when she saw the ark among the flags, she sent her maid to fetch it. %%% Muwala wa Falaawo n’aserengeta okunaaba ku mugga; abazaana be ne batambula ku lubalama lw’omugga; n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. 02EXO002.006 And when she had opened it, she saw the child: and, behold, the babe wept. And she had compassion on him, and said, This is one of the Hebrews' children. %%% n'akisumulula, n'alaba omwana: laba, omwana n'akaaba; n'amusaasira, n'ayogera nti Ono ye munne w'abaana ba Baebbulaniya. 02EXO002.007 Then said his sister to Pharaoh's daughter, Shall I go and call to thee a nurse of the Hebrew women, that she may nurse the child for thee? %%% Awo mwannyina n'amugamba omuwala wa Falaawo nti ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana? 02EXO002.008 And Pharaoh's daughter said to her, Go. And the maid went and called the child's mother. %%% Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Kale. Omuwala n'agenda n'amuyita nnyina w'omwana. 02EXO002.009 And Pharaoh's daughter said unto her, Take this child away, and nurse it for me, and I will give thee thy wages. And the woman took the child, and nursed it. %%% Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo. Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. 02EXO002.010 And the child grew, and she brought him unto Pharaoh's daughter, and he became her son. And she called his name Moses: and she said, Because I drew him out of the water. %%% Omwana n'akula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'afuuka omwana we. N'amutuuma erinnya lye Musa, n'ayogera nti Kubanga namuggya mu mazzi. 02EXO002.011 And it came to pass in those days, when Moses was grown, that he went out unto his brethren, and looked on their burdens: and he spied an Egyptian smiting an Hebrew, one of his brethren. %%% Awo olwatuuka mu nnaku ziri, ng'amaze okukula Musa, n'abajjira baganda be n'alaba emigugu gyabwe: n'alaba omuntu Omumisiri ng'akuba omuntu Omwebbulaniya, ow'omu baganda be. 02EXO002.012 And he looked this way and that way, and when he saw that there was no man, he slew the Egyptian, and hid him in the sand. %%% N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka amukuba Omumisiri, n'amukweka mu musenyu. 02EXO002.013 And when he went out the second day, behold, two men of the Hebrews strove together: and he said to him that did the wrong, Wherefore smitest thou thy fellow? %%% Awo ku lunaku olw'okubiri n'avaayo, laba, abasajja babiri ab'omu Baebbulaniya ne balwana: n'amugamba oli eyakola obubi nti Kiki ekikubizza munno. 02EXO002.014 And he said, Who made thee a prince and a judge over us? intendest thou to kill me, as thou killedst the Egyptian? And Moses feared, and said, Surely this thing is known. %%% N'ayogera nti Ani eyakuwa obukulu n'okutulamula ffe? Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri? Musa n'atya n'ayogera nti Mazima ekigambo kino kimanyise. 02EXO002.015 Now when Pharaoh heard this thing, he sought to slay Moses. But Moses fled from the face of Pharaoh, and dwelt in the land of Midian: and he sat down by a well. %%% Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okumutta Musa. Naye Musa n'adduka mu maaso ga Falaawo, n'atuula mu nsi ya Midiyaani: n'atuula wansi okumpi n'oluzzi. 02EXO002.016 Now the priest of Midian had seven daughters: and they came and drew water, and filled the troughs to water their father's flock. %%% Ne kabona ow'e Midiyaani yalina abawala musanvu: ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero ne bazinywesa endiga za kitaabwe. 02EXO002.017 And the shepherds came and drove them away: but Moses stood up and helped them, and watered their flock. %%% Abasumba ne bajja ne babagoba: naye Musa n'agolokoka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe. 02EXO002.018 And when they came to Reuel their father, he said, How is it that ye are come so soon to day? %%% Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti Nga muzze mangu leero? 02EXO002.019 And they said, An Egyptian delivered us out of the hand of the shepherds, and also drew water enough for us, and watered the flock. %%% Ne boogera nti Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, nate n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo. 02EXO002.020 And he said unto his daughters, And where is he? why is it that ye have left the man? call him, that he may eat bread. %%% N'abagamba bawala be nti Ali luuyi wa? Kiki ekibalesezza omuntu oyo? Mumuyite alye emmere. 02EXO002.021 And Moses was content to dwell with the man: and he gave Moses Zipporah his daughter. %%% Musa n'akkiriza okutuula n'omuntu oyo: n'amuwa Musa muwala we Zipola. 02EXO002.022 And she bare him a son, and he called his name Gershom: for he said, I have been a stranger in a strange land. %%% N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Gerusomu: kubanga yagamba nti Nali mugenyi mu nsi etali yange. 02EXO002.023 And it came to pass in process of time, that the king of Egypt died: and the children of Israel sighed by reason of the bondage, and they cried, and their cry came up unto God by reason of the bondage. %%% Awo ennaku ziri bwe zaayitawo ennyingi, kabaka w'e Misiri n'afa: abaana ba Isiraeri ne basinda ku lw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kulinnya eri Katonda ku lw'obuddu bwabwe. 02EXO002.024 And God heard their groaning, and God remembered his covenant with Abraham, with Isaac, and with Jacob. %%% Katonda n'awulira okusinda kwabwe, Katonda n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. 02EXO002.025 And God looked upon the children of Israel, and God had respect unto them. %%% Katonda n'alaba abaana ba Isiraeri, Katonda n'abalowooza. 02EXO003.001 Now Moses kept the flock of Jethro his father in law, the priest of Midian: and he led the flock to the backside of the desert, and came to the mountain of God, even to Horeb. %%% Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w’e Midiyaani: n'atwala ekisibo ennyuma w'eddungu n'atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu. 02EXO003.002 And the angel of the LORD appeared unto him in a flame of fire out of the midst of a bush: and he looked, and, behold, the bush burned with fire, and the bush was not consumed. %%% Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka: n'atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira. 02EXO003.003 And Moses said, I will now turn aside, and see this great sight, why the bush is not burnt. %%% Musa n'ayogera nti Ka nneekooloobye kaakati, ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira. 02EXO003.004 And when the LORD saw that he turned aside to see, God called unto him out of the midst of the bush, and said, Moses, Moses. And he said, Here am I. %%% Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno. 02EXO003.005 And he said, Draw not nigh hither: put off thy shoes from off thy feet, for the place whereon thou standest is holy ground. %%% N'ayogera nti Tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye ensi entukuvu. 02EXO003.006 Moreover he said, I am the God of thy father, the God of Abraham, the God of Isaac, and the God of Jacob. And Moses hid his face; for he was afraid to look upon God. %%% N'ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda. 02EXO003.007 And the LORD said, I have surely seen the affliction of my people which are in Egypt, and have heard their cry by reason of their taskmasters; for I know their sorrows; %%% Mukama n'ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw'abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe; 02EXO003.008 And I am come down to deliver them out of the hand of the Egyptians, and to bring them up out of that land unto a good land and a large, unto a land flowing with milk and honey; unto the place of the Canaanites, and the Hittites, and the Amorites, and the Perizzites, and the Hivites, and the Jebusites. %%% era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki; mu kifo eky'omu Kanani, n'eky'omu Kiiti, n'eky'omu Amoli, n'eky'omu Perizi, n'eky'omu Kiivi, n'eky'omu Yebusi. 02EXO003.009 Now therefore, behold, the cry of the children of Israel is come unto me: and I have also seen the oppression wherewith the Egyptians oppress them. %%% Kale laba, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kwe baababonyaabonya Abamisiri. 02EXO003.010 Come now therefore, and I will send thee unto Pharaoh, that thou mayest bring forth my people the children of Israel out of Egypt. %%% Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri. 02EXO003.011 And Moses said unto God, Who am I, that I should go unto Pharaoh, and that I should bring forth the children of Israel out of Egypt? %%% Musa n'agamba Katonda nti Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri? 02EXO003.012 And he said, Certainly I will be with thee; and this shall be a token unto thee, that I have sent thee: When thou hast brought forth the people out of Egypt, ye shall serve God upon this mountain. %%% N'ayogera nti Mazima ndibeera wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno. 02EXO003.013 And Moses said unto God, Behold, when I come unto the children of Israel, and shall say unto them, The God of your fathers hath sent me unto you; and they shall say to me, What is his name? what shall I say unto them? %%% Musa n'agamba Katonda nti Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? ndibagamba ntya? 02EXO003.014 And God said unto Moses, I AM THAT I AM: and he said, Thus shalt thou say unto the children of Israel, I AM hath sent me unto you. %%% Katonda n'agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe. 02EXO003.015 And God said moreover unto Moses, Thus shalt thou say unto the children of Israel, The LORD God of your fathers, the God of Abraham, the God of Isaac, and the God of Jacob, hath sent me unto you: this is my name for ever, and this is my memorial unto all generations. %%% Katonda n'agamba nate Musa nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n'ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna. 02EXO003.016 Go, and gather the elders of Israel together, and say unto them, The LORD God of your fathers, the God of Abraham, of Isaac, and of Jacob, appeared unto me, saying, I have surely visited you, and seen that which is done to you in Egypt: %%% Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri awamu, obagambe nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikidde ng'ayogera nti Mbajjiridde ddala, ndabye bye mukolebwa mu Misiri: 02EXO003.017 And I have said, I will bring you up out of the affliction of Egypt unto the land of the Canaanites, and the Hittites, and the Amorites, and the Perizzites, and the Hivites, and the Jebusites, unto a land flowing with milk and honey. %%% ne njogera nti Ndibalinnyisa okubaggya mu kibonoobono eky'e Misiri okuyingira mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki. 02EXO003.018 And they shall hearken to thy voice: and thou shalt come, thou and the elders of Israel, unto the king of Egypt, and ye shall say unto him, The LORD God of the Hebrews hath met with us: and now let us go, we beseech thee, three days' journey into the wilderness, that we may sacrifice to the LORD our God. %%% Balikuwulira eddoboozi lyo: olijja, ggwe n'abakadde ba Isiraeri, eri kabaka w'e Misiri, mulimugamba nti Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, yatujjira: kale nno, otulagire, tukwegayiridde, tugende olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe. 02EXO003.019 And I am sure that the king of Egypt will not let you go, no, not by a mighty hand. %%% Era mmanyi nti kabaka w'e Misiri talibalagira kugenda, weewaawo era n'omukono ogw'amaanyi. 02EXO003.020 And I will stretch out my hand, and smite Egypt with all my wonders which I will do in the midst thereof: and after that he will let you go. %%% Nange ndigolola omukono gwange, ne nkuba Misiri n'amagero gange gonna ge ndikola wakati waayo: oluvannyuma lwago alibalagira. 02EXO003.021 And I will give this people favour in the sight of the Egyptians: and it shall come to pass, that, when ye go, ye shall not go empty: %%% Era ndibawa abantu abo okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri: awo lwe mulivaayo, temulivaayo bwereere: 02EXO003.022 But every woman shall borrow of her neighbour, and of her that sojourneth in her house, jewels of silver, and jewels of gold, and raiment: and ye shall put them upon your sons, and upon your daughters; and ye shall spoil the Egyptians. %%% naye buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oli abeera mu nnyumba ye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye: mulibiteeka ku batabani bammwe n'abawala bammwe; mulinyaga Abamisiri. 02EXO004.001 And Moses answered and said, But, behold, they will not believe me, nor hearken unto my voice: for they will say, The LORD hath not appeared unto thee. %%% Musa n'addamu n'ayogera nti Naye, laba, tebalinzikiriza so tebaliwulira ddoboozi lyange: kubanga balyogera nti Mukama teyakulabikira. 02EXO004.002 And the LORD said unto him, What is that in thine hand? And he said, A rod. %%% Mukama n'amugamba nti Kiki ekiri mu mukono gwo? N'ayogera nti Muggo. 02EXO004.003 And he said, Cast it on the ground. And he cast it on the ground, and it became a serpent; and Moses fled from before it. %%% N'ayogera nti Gusuule wansi. N'agusuula wansi, ne gufuuka omusota: Musa n'adduka mu maaso gaagwo. 02EXO004.004 And the LORD said unto Moses, Put forth thine hand, and take it by the tail. And he put forth his hand, and caught it, and it became a rod in his hand: %%% Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo: (n'agolola omukono gwe, n'agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe:) 02EXO004.005 That they may believe that the LORD God of their fathers, the God of Abraham, the God of Isaac, and the God of Jacob, hath appeared unto thee. %%% Balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, nti akulabikidde. 02EXO004.006 And the LORD said furthermore unto him, Put now thine hand into thy bosom. And he put his hand into his bosom: and when he took it out, behold, his hand was leprous as snow. %%% Mukama n'amugamba nate nti Teeka omukono mu kifuba kyo. N'ateeka omukono gwe mu kifuba kye: bwe yaguggyaamu, laba, omukono gwe nga gulina ebigenge ng'omuzira. 02EXO004.007 And he said, Put thine hand into thy bosom again. And he put his hand into his bosom again; and plucked it out of his bosom, and, behold, it was turned again as his other flesh. %%% N'ayogera nti Guzze omukono gwo mu kifuba kyo. (N'aguzza omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba, nga gufuuse ng'omubiri (gwonna). 02EXO004.008 And it shall come to pass, if they will not believe thee, neither hearken to the voice of the first sign, that they will believe the voice of the latter sign. %%% Awo olulituuka bwe batalikukkiriza era bwe bataliwulira ddoboozi lya kabonero ak'olubereberye, balikkiriza eddoboozi ery'akabonero ak'okubiri. 02EXO004.009 And it shall come to pass, if they will not believe also these two signs, neither hearken unto thy voice, that thou shalt take of the water of the river, and pour it upon the dry land: and the water which thou takest out of the river shall become blood upon the dry land. %%% Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira ddoboozi lyo, olisena ku mazzi g'omugga n'ofuka ku lukalu: amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu. 02EXO004.010 And Moses said unto the LORD, O my LORD, I am not eloquent, neither heretofore, nor since thou hast spoken unto thy servant: but I am slow of speech, and of a slow tongue. %%% Musa n'agamba Mukama nti Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi, newakubadde okuva lw'oyogedde n'omuddu wo: kubanga soogera mangu, n'olulimi lwange luzito. 02EXO004.011 And the LORD said unto him, Who hath made man's mouth? or who maketh the dumb, or deaf, or the seeing, or the blind? have not I the LORD? %%% Mukama n'amugamba nti Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba omuzibe w'amatu oba atunula oba muzibe w'amaaso? Si nze Mukama? 02EXO004.012 Now therefore go, and I will be with thy mouth, and teach thee what thou shalt say. %%% Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu n'akamwa ko, ndikuyigiriza by'olyogera. 02EXO004.013 And he said, O my LORD, send, I pray thee, by the hand of him whom thou wilt send. %%% N'ayogera nti Ai Mukama, tuma nno, nkwegayiridde, mu mukono gw'oyo gw'oyagala okutuma. 02EXO004.014 And the anger of the LORD was kindled against Moses, and he said, Is not Aaron the Levite thy brother? I know that he can speak well. And also, behold, he cometh forth to meet thee: and when he seeth thee, he will be glad in his heart. %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti Alooni Omuleevi muganda wo taliiwo? Mmanyi nti ayinza okwogera obulungi. Era, laba, ajja okukusisinkana: bw'alikulaba, alisanyuka mu mutima gwe. 02EXO004.015 And thou shalt speak unto him, and put words in his mouth: and I will be with thy mouth, and with his mouth, and will teach you what ye shall do. %%% Naawe olimugamba, era oliteeka ebigambo mu kamwa ke: nange ndibeera wamu n'akamwa ko, n'akamwa ke, ndibayigiriza bye mulikola. 02EXO004.016 And he shall be thy spokesman unto the people: and he shall be, even he shall be to thee instead of a mouth, and thou shalt be to him instead of God. %%% Naye alibeera mutegeeza wo eri abantu: awo alikubeerera kamwa, naawe olimubeerera nga Katonda. 02EXO004.017 And thou shalt take this rod in thine hand, wherewith thou shalt do signs. %%% Naawe olitwala omuggo guno mu mukono gwo, gw'olikoza obubonero. 02EXO004.018 And Moses went and returned to Jethro his father in law, and said unto him, Let me go, I pray thee, and return unto my brethren which are in Egypt, and see whether they be yet alive. And Jethro said to Moses, Go in peace. %%% Musa n’agenda n'addayo eri Yesero mukoddomi we, n'amugamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzireyo eri baganda bange abali mu Misiri, ndabe nga bakyali balamu. Yesero n'agamba Musa nti Genda n'emirembe. 02EXO004.019 And the LORD said unto Moses in Midian, Go, return into Egypt: for all the men are dead which sought thy life. %%% Mukama n'agamba Musa mu Midiyaani nti Genda, oddeyo mu Misiri: kubanga abantu bonna abaali bakunoonya obulamu bwo bafudde. 02EXO004.020 And Moses took his wife and his sons, and set them upon an ass, and he returned to the land of Egypt: and Moses took the rod of God in his hand. %%% Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo mu nsi y'e Misiri: Musa n'atwala omuggo gwa Katonda mu mukono gwe. 02EXO004.021 And the LORD said unto Moses, When thou goest to return into Egypt, see that thou do all those wonders before Pharaoh, which I have put in thine hand: but I will harden his heart, that he shall not let the people go. %%% Mukama n'agamba Musa nti Bw'oliddayo mu Misiri, tolemanga kukola mu maaso ga Falaawo amagero gonna ge nteese mu mukono gwo: naye ndikakanyaza omutima gwe, talibaleka abantu okugenda. 02EXO004.022 And thou shalt say unto Pharaoh, Thus saith the LORD, Israel is my son, even my firstborn: %%% Naawe oligamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri ye mwana wange, omubereberye wange: 02EXO004.023 And I say unto thee, Let my son go, that he may serve me: and if thou refuse to let him go, behold, I will slay thy son, even thy firstborn. %%% nange nkugambye nti Leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka: laba, nditta omwana wo, omubereberye wo. 02EXO004.024 And it came to pass by the way in the inn, that the LORD met him, and sought to kill him. %%% Awo (bwe baali nga bakyali) mu kkubo mu kisulo, Mukama n'amusisinkana n'ayagala okumutta. 02EXO004.025 Then Zipporah took a sharp stone, and cut off the foreskin of her son, and cast it at his feet, and said, Surely a bloody husband art thou to me. %%% Awo Zipola n'atwala ejjinja ly'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akisuula ku bigerebye; n'ayogera nti Oli baze wa musaayi era omwami w'obugole bw'omusaayi. 02EXO004.026 So he let him go: then she said, A bloody husband thou art, because of the circumcision. %%% N'amuleka. N'alyoka ayogera nti Oli baze wa musaayi olw'okukomola. 02EXO004.027 And the LORD said to Aaron, Go into the wilderness to meet Moses. And he went, and met him in the mount of God, and kissed him. %%% Mukama n'agamba Alooni nti Genda mu ddungu omusisinkane Musa. N'agenda n'amulaba ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera. 02EXO004.028 And Moses told Aaron all the words of the LORD who had sent him, and all the signs which he had commanded him. %%% Musa n'agamba Alooni ebigambo byonna ebya Mukama bye yamutuma, n'obubonero bwonna bwe yamulagira. 02EXO004.029 And Moses and Aaron went and gathered together all the elders of the children of Israel: %%% Musa ne Alooni ne bagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri: 02EXO004.030 And Aaron spake all the words which the LORD had spoken unto Moses, and did the signs in the sight of the people. %%% Alooni n'ayogera ebigambo byonna Mukama bye yamugamba Musa, n'akola obubonero mu maaso g'abantu. 02EXO004.031 And the people believed: and when they heard that the LORD had visited the children of Israel, and that he had looked upon their affliction, then they bowed their heads and worshipped. %%% Abantu ne bakkiriza: bwe baawulira nti Mukama yabajjira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza. 02EXO005.001 And afterward Moses and Aaron went in, and told Pharaoh, Thus saith the LORD God of Israel, Let my people go, that they may hold a feast unto me in the wilderness. %%% Awo oluvannyuma ne bajja Musa ne Alooni ne bagamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Leka abantu bange bankolere embaga mu ddungu. 02EXO005.002 And Pharaoh said, Who is the LORD, that I should obey his voice to let Israel go? I know not the LORD, neither will I let Israel go. %%% Falaawo n'ayogera nti Mukama ye ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Isiraeri? Simanyi nze Mukama, era nate sirireka Isiraeri. 02EXO005.003 And they said, The God of the Hebrews hath met with us: let us go, we pray thee, three days' journey into the desert, and sacrifice unto the LORD our God; lest he fall upon us with pestilence, or with the sword. %%% Ne boogera nti Katonda wa Baebbulaniya yatusisinkana: tukwegayiridde, leka tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe; aleme okutukuba ne kawumpuli oba n'ekitala. 02EXO005.004 And the king of Egypt said unto them, Wherefore do ye, Moses and Aaron, let the people from their works? get you unto your burdens. %%% Kabaka w'e Misiri n'abagamba nti Lwaki mmwe, Musa ne Alooni, okubalesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende eri emigugu gyammwe. 02EXO005.005 And Pharaoh said, Behold, the people of the land now are many, and ye make them rest from their burdens. %%% Falaawo n'ayogera nti Laba, abantu ab'omu nsi bangi kaakano, nammwe mubawummuza mu migugu gyabwe. 02EXO005.006 And Pharaoh commanded the same day the taskmasters of the people, and their officers, saying, %%% Ku lunaku luli Falaawo n'alagira abakoza b'abantu n'abaami baabwe, ng'ayogera nti 02EXO005.007 Ye shall no more give the people straw to make brick, as heretofore: let them go and gather straw for themselves. %%% Temuwanga nate abantu essuubi ery'okukoza amatoffaali ng'edda: bagende beekuŋŋaanyize essubi. 02EXO005.008 And the tale of the bricks, which they did make heretofore, ye shall lay upon them; ye shall not diminish ought thereof: for they be idle; therefore they cry, saying, Let us go and sacrifice to our God. %%% N'omuwendo ogw'amatoffaali, gwe baakola edda, mugubasalire; muleme okugukendeezaako n'akatono: kubanga bagayaala; kyebava bakaaba nga boogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Katonda waffe. 02EXO005.009 Let there more work be laid upon the men, that they may labour therein; and let them not regard vain words. %%% Emirimu emizibu gisalirwe abasajja bagikole; baleme okuwulira ebigambo eby'obulimba. 02EXO005.010 And the taskmasters of the people went out, and their officers, and they spake to the people, saying, Thus saith Pharaoh, I will not give you straw. %%% Abakoza b'abantu ne bavaayo n'abaami baabwe, ne bagamba abantu nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Falaawo nti Siribawa ssubi. 02EXO005.011 Go ye, get you straw where ye can find it: yet not ought of your work shall be diminished. %%% Mugende mwekka, mwereetere essubi gye muyinza okuliraba: kubanga emirimu gyammwe tegirisalibwako n'akatono. 02EXO005.012 So the people were scattered abroad throughout all the land of Egypt to gather stubble instead of straw. %%% Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya ebisasiro nga tewali ssubi. 02EXO005.013 And the taskmasters hasted them, saying, Fulfil your works, your daily tasks, as when there was straw. %%% Abakoza baabwe ne babakubiriza, nga boogera nti Mutuukirize emirimu gyammwe, emirimu egya buli lunaku, nga bwe mwakola essubi bwe lyabangawo. 02EXO005.014 And the officers of the children of Israel, which Pharaoh's taskmasters had set over them, were beaten, and demanded, Wherefore have ye not fulfilled your task in making brick both yesterday and to day, as heretofore? %%% Abaami b'abaana ba Isiraeri, abakoza ba Falaawo be baakuza ku bo, ne bakubibwa, nga boogera nti Lwaki obutatuukiriza mulimu gwammwe jjo ne leero okukola amatoffaali ng'edda? 02EXO005.015 Then the officers of the children of Israel came and cried unto Pharaoh, saying, Wherefore dealest thou thus with thy servants? %%% Awo ne bajja abaami b'abaanal ba Isiraeri ne bakaabira Falaawo, nga boogera nti Kiki ekikukoza bw'otyo abaddu bo? 02EXO005.016 There is no straw given unto thy servants, and they say to us, Make brick: and, behold, thy servants are beaten; but the fault is in thine own people. %%% Abaddu bo tetuweebwa ssubi, ne batugamba nti Mukole amatoffaali: era, laba, abaddu bo tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo. 02EXO005.017 But he said, Ye are idle, ye are idle: therefore ye say, Let us go and do sacrifice to the LORD. %%% Naye n'ayogera nti Mugayaala, mugayaala: kyemuva mwogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Mukama. 02EXO005.018 Go therefore now, and work; for there shall no straw be given you, yet shall ye deliver the tale of bricks. %%% Kale kaakati mugende mukole emirimu; kubanga temuliweebwa ssubi,naye nammwe munaaleetanga omuwendo gw'amatoffaali. 02EXO005.019 And the officers of the children of Israel did see that they were in evil case, after it was said, Ye shall not minish ought from your bricks of your daily task. %%% Abaami b'abaana ba Isiraeri ne balaba nga balabye obubi bwe bayogera nti Temulikendeeza ku matoffaali gammwe n'akatono, emirimu egya buli lunaku. 02EXO005.020 And they met Moses and Aaron, who stood in the way, as they came forth from Pharaoh: %%% Ne basisinkana Musa ne Alooni, abaali bayimiridde mu kkubo, nga bava eri Falaawo: 02EXO005.021 And they said unto them, The LORD look upon you, and judge; because ye have made our savour to be abhorred in the eyes of Pharaoh, and in the eyes of his servants, to put a sword in their hand to slay us. %%% ne babagamba nti Mukama abatunuulire asale omusango; kubanga mukyayisizza okuwunya kwaffe mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g'abaddu be, okubawa ekitala mu mukono gwabwe okututta. 02EXO005.022 And Moses returned unto the LORD, and said, LORD, wherefore hast thou so evil entreated this people? why is it that thou hast sent me? %%% Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze? 02EXO005.023 For since I came to Pharaoh to speak in thy name, he hath done evil to this people; neither hast thou delivered thy people at all. %%% Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bano; so tewabawonya abantu bo n'akatono. 02EXO006.001 Then the LORD said unto Moses, Now shalt thou see what I will do to Pharaoh: for with a strong hand shall he let them go, and with a strong hand shall he drive them out of his land. %%% Mukama n'amugamba Musa nti Kaakano bw'oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n'omukono ogw'amaanyi alibaleka, era n'omukono ogw'amaanyi alibagoba mu nsi ye. 02EXO006.002 And God spake unto Moses, and said unto him, I am the LORD: %%% Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti NZE YAKUWA: 02EXO006.003 And I appeared unto Abraham, unto Isaac, and unto Jacob, by the name of God Almighty, but by my name JEHOVAH was I not known to them. %%% nnalabikira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo. 02EXO006.004 And I have also established my covenant with them, to give them the land of Canaan, the land of their pilgrimage, wherein they were strangers. %%% Ne nnyweza nate endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanani, ensi ey'okutambula kwabwe, gye baatambulamu. 02EXO006.005 And I have also heard the groaning of the children of Israel, whom the Egyptians keep in bondage; and I have remembered my covenant. %%% Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange. 02EXO006.006 Wherefore say unto the children of Israel, I am the LORD, and I will bring you out from under the burdens of the Egyptians, and I will rid you out of their bondage, and I will redeem you with a stretched out arm, and with great judgments: %%% Kyova obabuulira abaana ba Isiraeri nti Nze Yakuwa, nange ndibaggyako emigugu egy'Abamisiri, ndibaggirawo obuddu bwabwe, ndibanunula n'omukono gwe ndigolola n'emisango eminene: 02EXO006.007 And I will take you to me for a people, and I will be to you a God: and ye shall know that I am the LORD your God, which bringeth you out from under the burdens of the Egyptians. %%% era ndibeetwalira okubeera eggwanga, nange ndibabeerera Katonda: nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe, abaggya mu migugu egy'Abamisiri. 02EXO006.008 And I will bring you in unto the land, concerning the which I did swear to give it to Abraham, to Isaac, and to Jacob; and I will give it you for an heritage: I am the LORD. %%% Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa. 02EXO006.009 And Moses spake so unto the children of Israel: but they hearkened not unto Moses for anguish of spirit, and for cruel bondage. %%% Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe. 02EXO006.010 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti 02EXO006.011 Go in, speak unto Pharaoh king of Egypt, that he let the children of Israel go out of his land. %%% Yingira, ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri abaleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye. 02EXO006.012 And Moses spake before the LORD, saying, Behold, the children of Israel have not hearkened unto me; how then shall Pharaoh hear me, who am of uncircumcised lips? %%% Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama ng'agamba nti Laba, abaana ba Isiraeri tebampulidde; Falaawo anampulira atya nze atakomolebwa mimwa? 02EXO006.013 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, and gave them a charge unto the children of Israel, and unto Pharaoh king of Egypt, to bring the children of Israel out of the land of Egypt. %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni, n'abalagira eri abaana ba Isiraeri n'eri Falaawo kabaka w'e Misiri, okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri. 02EXO006.014 These be the heads of their fathers' houses: The sons of Reuben the firstborn of Israel; Hanoch, and Pallu, Hezron, and Carmi: these be the families of Reuben. %%% Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe: abaana ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi: abo bye bika bya Lewubeeni. 02EXO006.015 And the sons of Simeon; Jemuel, and Jamin, and Ohad, and Jachin, and Zohar, and Shaul the son of a Canaanitish woman: these are the families of Simeon. %%% N'abaana ba Simyoni; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani: abo bye bika bya Simyoni. 02EXO006.016 And these are the names of the sons of Levi according to their generations; Gershon, and Kohath, and Merari: and the years of the life of Levi were an hundred thirty and seven years. %%% Ne gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe; Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali: n'emyaka egy'obulamu bwa Leevi emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. 02EXO006.017 The sons of Gershon; Libni, and Shimi, according to their families. %%% Abaana ba Gerusoni: Libuni ne Simeeyi, mu bika byabwe. 02EXO006.018 And the sons of Kohath; Amram, and Izhar, and Hebron, and Uzziel: and the years of the life of Kohath were an hundred thirty and three years. %%% N'abaana ba Kokasi: Amulaamu ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri: n'emyaka egy'obulamu bwa Kokasi emyaka kikumi mu asatu mu esatu. 02EXO006.019 And the sons of Merari; Mahali and Mushi: these are the families of Levi according to their generations. %%% N'abaana ba Merali; Makuli ne Musi. Abo bye bika by'Abaleevi mu mirembe gyabwe. 02EXO006.020 And Amram took him Jochebed his father's sister to wife; and she bare him Aaron and Moses: and the years of the life of Amram were an hundred and thirty and seven years. %%% Amulaamu n'awasa Yokebedi muganda wa kitaawe; n'amuzaalira Alooni, ne Musa: n'emyaka egy'obulamu bwa Amulaamu emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. 02EXO006.021 And the sons of Izhar; Korah, and Nepheg, and Zichri. %%% N'abaana ba Izukali: Koola, ne Nefega, ne Zikiri. 02EXO006.022 And the sons of Uzziel; Mishael, and Elzaphan, and Zithri. %%% N'abaana ba Wuziyeeri; Misaeri, ne Erizafani, ne Sisiri. 02EXO006.023 And Aaron took him Elisheba, daughter of Amminadab, sister of Naashon, to wife; and she bare him Nadab, and Abihu, Eleazar, and Ithamar. %%% Alooni n'awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 02EXO006.024 And the sons of Korah; Assir, and Elkanah, and Abiasaph: these are the families of the Korhites. %%% N'abaana ba Koola: Asira, ne Erukaana, ne Abiyasaafu; abo bye bika by'Abakoola. 02EXO006.025 And Eleazar Aaron's son took him one of the daughters of Putiel to wife; and she bare him Phinehas: these are the heads of the fathers of the Levites according to their families. %%% Eriyazaali omwana wa Alooni, n'awasa mu bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja b'Abaleevi mu bika byabwe. 02EXO006.026 These are that Aaron and Moses, to whom the LORD said, Bring out the children of Israel from the land of Egypt according to their armies. %%% Abo ye Alooni ne Musa bali Mukama be yagamba nti Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri mu ggye lyabwe. 02EXO006.027 These are they which spake to Pharaoh king of Egypt, to bring out the children of Israel from Egypt: these are that Moses and Aaron. %%% Abo be baagamba Falaawo kabaka w'e Misiri okuggya abaana ba Isiraeri mu Misiri: abo ye Musa ne Alooni bali. 02EXO006.028 And it came to pass on the day when the LORD spake unto Moses in the land of Egypt, %%% Awo ku lunaku Mukama lwe yagamba Musa mu nsi y'e Misiri. 02EXO006.029 That the LORD spake unto Moses, saying, I am the LORD: speak thou unto Pharaoh king of Egypt all that I say unto thee. %%% Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti Nze Mukama: ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba. 02EXO006.030 And Moses said before the LORD, Behold, I am of uncircumcised lips, and how shall Pharaoh hearken unto me? %%% Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama nti Laba sikomolebwanga mimwa, Falaawo anampulira atya? 02EXO007.001 And the LORD said unto Moses, See, I have made thee a god to Pharaoh: and Aaron thy brother shall be thy prophet. %%% Mukama n'agamba nti Laba, nkufudde Katonda eri Falaawo: era Alooni mugandawo alibeera nabbi wo. 02EXO007.002 Thou shalt speak all that I command thee: and Aaron thy brother shall speak unto Pharaoh, that he send the children of Israel out of his land. %%% Olyogera kye nkulagira: ne Alooni mugandawo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye. 02EXO007.003 And I will harden Pharaoh's heart, and multiply my signs and my wonders in the land of Egypt. %%% Nange ndikakanyaza omutima gwa Falaawo, ne nnyongeza obubonero bwange n'amagero mu nsi y'e Misiri. 02EXO007.004 But Pharaoh shall not hearken unto you, that I may lay my hand upon Egypt, and bring forth mine armies, and my people the children of Israel, out of the land of Egypt by great judgments. %%% Naye Falaawo talibawulira, nange nditeekako omukono gwange ku Misiri ne nfulumya eggye lyange, abantu bange abaana ba Isiraeri, mu nsi y'e Misiri, n'emisango eminene. 02EXO007.005 And the Egyptians shall know that I am the LORD, when I stretch forth mine hand upon Egypt, and bring out the children of Israel from among them. %%% N’abo Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne mbaggyayo abaana ba Isiraeri mu bo. 02EXO007.006 And Moses and Aaron did as the LORD commanded them, so did they. %%% Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yabalagira: bwe batyo bwe baakola. 02EXO007.007 And Moses was fourscore years old, and Aaron fourscore and three years old, when they spake unto Pharaoh. %%% Ne Musa yali nga yaakamala emyaka kinaana: ne Alooni nga yaakamala kinaana mu esatu, bwe baayogera ne Falaawo. 02EXO007.008 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni ng'ayogera nti 02EXO007.009 When Pharaoh shall speak unto you, saying, Shew a miracle for you: then thou shalt say unto Aaron, Take thy rod, and cast it before Pharaoh, and it shall become a serpent. %%% Falaawo bw'alibagamba ng'ayogera nti Mukoleewo eky'amagero: n'olyoka ogamba Aloni nti Twala omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gube omusota. 02EXO007.010 And Moses and Aaron went in unto Pharaoh, and they did so as the LORD had commanded: and Aaron cast down his rod before Pharaoh, and before his servants, and it became a serpent. %%% Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira: Aloni n’asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddube, ne guba omusota. 02EXO007.011 Then Pharaoh also called the wise men and the sorcerers: now the magicians of Egypt, they also did in like manner with their enchantments. %%% Falaawo naye nalyoka ayita abagezi n’abalogo: era nabo abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo n’amagezi gaabwe ag’ekyama. 02EXO007.012 For they cast down every man his rod, and they became serpents: but Aaron's rod swallowed up their rods. %%% Kubanga baasuula buli muntu omuggo gwe ne giba emisota naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 02EXO007.013 And he hardened Pharaoh's heart, that he hearkened not unto them; as the LORD had said. %%% Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. 02EXO007.014 And the LORD said unto Moses, Pharaoh's heart is hardened, he refuseth to let the people go. %%% Mukama n'agamba Musa nti Falaawo omutima gwe guzitowa, agaana okubaleka abantu. 02EXO007.015 Get thee unto Pharaoh in the morning; lo, he goeth out unto the water; and thou shalt stand by the river's brink against he come; and the rod which was turned to a serpent shalt thou take in thine hand. %%% Ogenda eri Falaawo enkya; laba, afuluma okugenda ku mugga; naawe oliyimirira ku mabbali g’omugga okumusisinkana; n’omuggo ogwafuuka omusota oligutwala mu mukono gwo. 02EXO007.016 And thou shalt say unto him, The LORD God of the Hebrews hath sent me unto thee, saying, Let my people go, that they may serve me in the wilderness: and, behold, hitherto thou wouldest not hear. %%% N'omugamba nti Mukama, Katonda wa Baebulaniya, antumye gy’oli ng’ayogera nti Leka abantu bange, bampeerereze mu ddungu: era, laba, okutuusa kaakano towulira. 02EXO007.017 Thus saith the LORD, In this thou shalt know that I am the LORD: behold, I will smite with the rod that is in mine hand upon the waters which are in the river, and they shall be turned to blood. %%% Bw’atyo Mukama bw'ayogera nti Ku kino kw’olimanyira nga nze Mukama: laba, ndikuba n’omuggo oguli mu mukono gwange ku mazzi agali mu mugga, galifuuka omusaayi. 02EXO007.018 And the fish that is in the river shall die, and the river shall stink; and the Egyptians shall lothe to drink of the water of the river. %%% N’eby’omu nnyanja birifa, omugga guliwunya: Abamisiri amazzi ag’omu mugga galibatama okunywako. 02EXO007.019 And the LORD spake unto Moses, Say unto Aaron, Take thy rod, and stretch out thine hand upon the waters of Egypt, upon their streams, upon their rivers, and upon their ponds, and upon all their pools of water, that they may become blood; and that there may be blood throughout all the land of Egypt, both in vessels of wood, and in vessels of stone. %%% Mukama n’agamba Musa nti Gamba Alooni nti Twala omuggo gwo ogolole omukono gwo ku mazzi g’e Misiri, ku migga gyabwe, ku nsalosalo zaabwe, ne ku bidiba byabwe, ne ku nnyanja zaabwe zonna ez’amazzi, gafuuke omusaayi; era mulibeera omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri, mu ntiba ez’omuti ne mu nsuwa ez’amayinja. 02EXO007.020 And Moses and Aaron did so, as the LORD commanded; and he lifted up the rod, and smote the waters that were in the river, in the sight of Pharaoh, and in the sight of his servants; and all the waters that were in the river were turned to blood. %%% Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n’ayimusa omuggo, n’akuba amazzi agali mu migga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi. 02EXO007.021 And the fish that was in the river died; and the river stank, and the Egyptians could not drink of the water of the river; and there was blood throughout all the land of Egypt. %%% N’eby’omu muagga ne bifa; omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa amazzi mu mugga; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey’e Misiri. 02EXO007.022 And the magicians of Egypt did so with their enchantments: and Pharaoh's heart was hardened, neither did he hearken unto them; as the LORD had said. %%% Ne bakola bwe batyo abasawo Abamisiri mu magezi gaabwe ag’ekyama; Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. 02EXO007.023 And Pharaoh turned and went into his house, neither did he set his heart to this also. %%% Falaawo n’akyuka n’agenda mu nnyumba ye. 02EXO007.024 And all the Egyptians digged round about the river for water to drink; for they could not drink of the water of the river. %%% Abamisiri bonna ne basima kumpi n’omugga bafune amazzi ag’okunywa; kubanga amazzi ag’omu mugga tebaayinza kunywako. 02EXO007.025 And seven days were fulfilled, after that the LORD had smitten the river. %%% Ennaku musanvu ne zituukirira, Mukama ng’amaze okukuba omugga. 02EXO008.001 And the LORD spake unto Moses, Go unto Pharaoh, and say unto him, Thus saith the LORD, Let my people go, that they may serve me. %%% Mukama n’agamba Musa nti yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw’atyo Mukama bwayogera nti Leka abantu bange, bampeereze. 02EXO008.002 And if thou refuse to let them go, behold, I will smite all thy borders with frogs: %%% Era bw’onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndikuba ensalo zo zonna n’ebikere: 02EXO008.003 And the river shall bring forth frogs abundantly, which shall go up and come into thine house, and into thy bedchamber, and upon thy bed, and into the house of thy servants, and upon thy people, and into thine ovens, and into thy kneadingtroughs: %%% n'omugga gulijula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku kitanda kyo, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo eby'okugoyeramu: 02EXO008.004 And the frogs shall come up both on thee, and upon thy people, and upon all thy servants. %%% n'ebikere biririnnya ku ggwe, era ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna. 02EXO008.005 And the LORD spake unto Moses, Say unto Aaron, Stretch forth thine hand with thy rod over the streams, over the rivers, and over the ponds, and cause frogs to come up upon the land of Egypt. %%% Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku nsalosalo, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri. 02EXO008.006 And Aaron stretched out his hand over the waters of Egypt; and the frogs came up, and covered the land of Egypt. %%% Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bisaanikira ensi ey'e Misiri. 02EXO008.007 And the magicians did so with their enchantments, and brought up frogs upon the land of Egypt. %%% N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri. 02EXO008.008 Then Pharaoh called for Moses and Aaron, and said, Intreat the LORD, that he may take away the frogs from me, and from my people; and I will let the people go, that they may do sacrifice unto the LORD. %%% Falaawo n'alyoka abayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Musabe Mukama anziyeko ebikere nze n'abantu bange: nange naabaleka abantu, baweeyo saddaaka eri Mukama. 02EXO008.009 And Moses said unto Pharaoh, Glory over me: when shall I intreat for thee, and for thy servants, and for thy people, to destroy the frogs from thee and thy houses, that they may remain in the river only? %%% Musa n'agamba Falaawo nti Olw'ekyo weenyumiriza ku nze: mu biro ki mwe mba nkusabira ggwe n'abaddu ba n'abantu bo ebikere bizikirizibwe ku ggwe ne ku nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka? 02EXO008.010 And he said, To morrow. And he said, Be it according to thy word: that thou mayest know that there is none like unto the LORD our God. %%% N'ayogera nti Ku lwa jjo. N'ayogera nti Kibe ng'ekigambo kyo: olyoke omanye nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe. 02EXO008.011 And the frogs shall depart from thee, and from thy houses, and from thy servants, and from thy people; they shall remain in the river only. %%% N'ebikere birikuleka ggwe n'ennyumba zo n'abaddu bo n'abantu bo; birisigala mu mugga mwokka. 02EXO008.012 And Moses and Aaron went out from Pharaoh: and Moses cried unto the LORD because of the frogs which he had brought against Pharaoh. %%% Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo: Musa n'akaabira Mukama ku lw'ebikere bye yamuleetera Falaawo. 02EXO008.013 And the LORD did according to the word of Moses; and the frogs died out of the houses, out of the villages, and out of the fields. %%% Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa: ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku. 02EXO008.014 And they gathered them together upon heaps: and the land stank. %%% Ne babikuŋŋaanya entuumo n'entuumo: ensi n'ewunya. 02EXO008.015 But when Pharaoh saw that there was respite, he hardened his heart, and hearkened not unto them; as the LORD had said. %%% Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebbanga weeriri ery'okuwummuliramu, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. 02EXO008.016 And the LORD said unto Moses, Say unto Aaron, Stretch out thy rod, and smite the dust of the land, that it may become lice throughout all the land of Egypt. %%% Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, ebe ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri. 02EXO008.017 And they did so; for Aaron stretched out his hand with his rod, and smote the dust of the earth, and it became lice in man, and in beast; all the dust of the land became lice throughout all the land of Egypt. %%% Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo n’akuba enfuufu y’ensi, ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo; enfuufu yonna ey'ensi n'eba ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri. 02EXO008.018 And the magicians did so with their enchantments to bring forth lice, but they could not: so there were lice upon man, and upon beast. %%% N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza; ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. 02EXO008.019 Then the magicians said unto Pharaoh, This is the finger of God: and Pharaoh's heart was hardened, and he hearkened not unto them; as the LORD had said. %%% Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti Eno ye ngalo ya Katonda: Falaawo n'akakanyala omutima gwe, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. 02EXO008.020 And the LORD said unto Moses, Rise up early in the morning, and stand before Pharaoh; lo, he cometh forth to the water; and say unto him, Thus saith the LORD, Let my people go, that they may serve me. %%% Mukama n'agamba Musa nti Golokoka ku nkya mu matuluutulu oyimirire mu maaso ga Falaawo; laba, afuluma okugenda ku mazzi; omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze. 02EXO008.021 Else, if thou wilt not let my people go, behold, I will send swarms of flies upon thee, and upon thy servants, and upon thy people, and into thy houses: and the houses of the Egyptians shall be full of swarms of flies, and also the ground whereon they are. %%% Naye bw'otoobaleke, laba, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ne mu nnyumba zo: n'ennyumba ez'Abamisiri zirijjula ebikuukuulu by'ensowera, era n'ebibanja mwe ziri. 02EXO008.022 And I will sever in that day the land of Goshen, in which my people dwell, that no swarms of flies shall be there; to the end thou mayest know that I am the LORD in the midst of the earth. %%% Nange ndigyawulako ku lunaku luli ensi ey'e Goseni, abantu bange mwebasula, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke omanye nga nze Mukama ali wakati w'ensi. 02EXO008.023 And I will put a division between my people and thy people: to morrow shall this sign be. %%% Nange nditeekawo okununula wakati mu bantu bange n'abantu bo: jjo lwe kalibeerawo akabonero kano. 02EXO008.024 And the LORD did so; and there came a grievous swarm of flies into the house of Pharaoh, and into his servants' houses, and into all the land of Egypt: the land was corrupted by reason of the swarm of flies. %%% Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera ne bijja ebizibu mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be : ne mu nsi yonna ey'e Misiri ensi n'efa ebikuukuulu by'ensowera. 02EXO008.025 And Pharaoh called for Moses and for Aaron, and said, Go ye, sacrifice to your God in the land. %%% Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Mugende muweeyo saddaaka eri Katonda wammwe mu nsi eno. 02EXO008.026 And Moses said, It is not meet so to do; for we shall sacrifice the abomination of the Egyptians to the LORD our God: lo, shall we sacrifice the abomination of the Egyptians before their eyes, and will they not stone us? %%% Musa n'ayogera nti Si kirungi okukola bwe kityo; kubanga tuliwa eky'omuzizo eky'Abamisiri Mukama Katonda waffe: laba, bwe tulimuwa eky'omuzizo eky'Abamisiri mu maaso gaabwe, tebalitukuba amayinja? 02EXO008.027 We will go three days' journey into the wilderness, and sacrifice to the LORD our God, as he shall command us. %%% Ka tugende olugendo olw'ennaku essatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira. 02EXO008.028 And Pharaoh said, I will let you go, that ye may sacrifice to the LORD your God in the wilderness; only ye shall not go very far away: intreat for me. %%% Falaawo n'ayogera nti Naabaleka; muweeyo saddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu: wabula kino kyokka, temugenda wala nnyo: munsabire. 02EXO008.029 And Moses said, Behold, I go out from thee, and I will intreat the LORD that the swarms of flies may depart from Pharaoh, from his servants, and from his people, to morrow: but let not Pharaoh deal deceitfully any more in not letting the people go to sacrifice to the LORD. %%% Musa n'ayogera nti Laba nva mu maaso go, ndimusaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwewo eri Falaawo, eri abaddu be, n'eri abantu be, jjo: wabula kino kyokka, Falaawo aleme okweyongera nate okulimba obutaleka bantu, baweeyo saddaaka eri Mukama. 02EXO008.030 And Moses went out from Pharaoh, and intreated the LORD. %%% Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama. 02EXO008.031 And the LORD did according to the word of Moses; and he removed the swarms of flies from Pharaoh, from his servants, and from his people; there remained not one. %%% Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa; n'amuggirawo ebikuukuulu by'ensowera Falaawo, abaddu be, n'abantu be; ne watasigala n'emu. 02EXO008.032 And Pharaoh hardened his heart at this time also, neither would he let the people go. %%% Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'atabaleka abantu. 02EXO009.001 Then the LORD said unto Moses, Go in unto Pharaoh, and tell him, Thus saith the LORD God of the Hebrews, Let my people go, that they may serve me. %%% Mukama n'alyoka agamba Musa nti Yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti Baleke abantu bange bampeereze. 02EXO009.002 For if thou refuse to let them go, and wilt hold them still, %%% Kubanga bw'onoogaana okubaleka n'oyongera okubakwata, 02EXO009.003 Behold, the hand of the LORD is upon thy cattle which is in the field, upon the horses, upon the asses, upon the camels, upon the oxen, and upon the sheep: there shall be a very grievous murrain. %%% laba, omukono gwa Mukama guli ku magana go agali mu ttale, ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga: nsotoka omuzibu ennyo. 02EXO009.004 And the LORD shall sever between the cattle of Israel and the cattle of Egypt: and there shall nothing die of all that is the children's of Israel. %%% Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri n'amagana ag'e Misiri; so tewalifa n'emu mu ago ag'abaana ba Isiraeri gonna. 02EXO009.005 And the LORD appointed a set time, saying, To morrow the LORD shall do this thing in the land. %%% Mukama n'assaawo ekiseera kye yayagala, ng'ayogera nti Jjo Mukama bw'alikola ekyo mu nsi. 02EXO009.006 And the LORD did that thing on the morrow, and all the cattle of Egypt died: but of the cattle of the children of Israel died not one. %%% Mukama n'akola kiri bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa: naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tewaafa n'emu. 02EXO009.007 And Pharaoh sent, and, behold, there was not one of the cattle of the Israelites dead. And the heart of Pharaoh was hardened, and he did not let the people go. %%% Falaawo n'atuma, laba, mu magana g'Abaisiraeri tewaali newakubadde n'emu efudde. Naye Falaawo omutima ne gukakanyala, n'atabaleka abantu. 02EXO009.008 And the LORD said unto Moses and unto Aaron, Take to you handfuls of ashes of the furnace, and let Moses sprinkle it toward the heaven in the sight of Pharaoh. %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Mwetwalire embatu ez'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu mu maaso ga Falaawo. 02EXO009.009 And it shall become small dust in all the land of Egypt, and shall be a boil breaking forth with blains upon man, and upon beast, throughout all the land of Egypt. %%% Era liriba nfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, liriba jjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo, mu nsi yonna ey'e Misiri. 02EXO009.010 And they took ashes of the furnace, and stood before Pharaoh; and Moses sprinkled it up toward heaven; and it became a boil breaking forth with blains upon man, and upon beast. %%% Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne liba ejjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo. 02EXO009.011 And the magicians could not stand before Moses because of the boils; for the boil was upon the magicians, and upon all the Egyptians. %%% Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa ku lw'amayute; kubanga, amayute gaali ku basawo, ne ku Bamisiri bonna. 02EXO009.012 And the LORD hardened the heart of Pharaoh, and he hearkened not unto them; as the LORD had spoken unto Moses. %%% Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa. 02EXO009.013 And the LORD said unto Moses, Rise up early in the morning, and stand before Pharaoh, and say unto him, Thus saith the LORD God of the Hebrews, Let my people go, that they may serve me. %%% Mukama n'agamba Musa nti Ogolokoka enkya mu makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya, nti Leka abantu bange, bampeereze. 02EXO009.014 For I will at this time send all my plagues upon thine heart, and upon thy servants, and upon thy people; that thou mayest know that there is none like me in all the earth. %%% Kubanga omulundi guno naakuleetera ebibonobono byange byonna omutima gwo n'abaddu bo n'abantu bo; olyoke omanye nga tewali mu nsi yonna afaanana nga nze. 02EXO009.015 For now I will stretch out my hand, that I may smite thee and thy people with pestilence; and thou shalt be cut off from the earth. %%% Kubanga kaakano nandigolodde omukono gwange, nandikukubye ggwe n'abantu bo ne kawumpuli, wandizikiridde mu nsi: 02EXO009.016 And in very deed for this cause have I raised thee up, for to shew in thee my power; and that my name may be declared throughout all the earth. %%% naye ddala mazima kyenvudde nkuyimiriza okukulaga amaanyi gange ggwe, era erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna. 02EXO009.017 As yet exaltest thou thyself against my people, that thou wilt not let them go? %%% Okutuusa kaakano weegulumizizza ku bantu bange, obutabaleka? 02EXO009.018 Behold, to morrow about this time I will cause it to rain a very grievous hail, such as hath not been in Egypt since the foundation thereof even until now. %%% Laba, jjo nga mu kiseera kino nditonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikanga mu Misiri kasookedde esooka okubaawo okutuusa kaakano. 02EXO009.019 Send therefore now, and gather thy cattle, and all that thou hast in the field; for upon every man and beast which shall be found in the field, and shall not be brought home, the hail shall come down upon them, and they shall die. %%% Kale, kaakano, tuma, oyanguye okuyingiza amagana go ne byonna by'olina mu ttale; buli muntu n'ensolo abanaalabika mu ttale abataaleetebwe mu nnyumba, omuzira gulibakuba, balifa. 02EXO009.020 He that feared the word of the LORD among the servants of Pharaoh made his servants and his cattle flee into the houses: %%% Eyatya ekigambo kya Mukama mu baddu ba Falaawo n'abaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba: 02EXO009.021 And he that regarded not the word of the LORD left his servants and his cattle in the field. %%% ataakitya ekigambo kya Mukama n'abaleka abaddu be n'amagana ge mu ttale. 02EXO009.022 And the LORD said unto Moses, Stretch forth thine hand toward heaven, that there may be hail in all the land of Egypt, upon man, and upon beast, and upon every herb of the field, throughout the land of Egypt. %%% Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ne ku muddo gwonna ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri. 02EXO009.023 And Moses stretched forth his rod toward heaven: and the LORD sent thunder and hail, and the fire ran along upon the ground; and the LORD rained hail upon the land of Egypt. %%% Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu: Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi; Mukama n'atonnyesa omuzira ku nsi ey'e Misiri. 02EXO009.024 So there was hail, and fire mingled with the hail, very grievous, such as there was none like it in all the land of Egypt since it became a nation. %%% Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira, omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga. 02EXO009.025 And the hail smote throughout all the land of Egypt all that was in the field, both man and beast; and the hail smote every herb of the field, and brake every tree of the field. %%% Omuzira ne gukuba mu nsi yonna ey'e Misiri buli ekyali mu ttale, omuntu era n'ensolo; omuzira ne gukuba buli muddo ogw'omu nsuku, ne gumenya buli muti ogw'omu nsuku. 02EXO009.026 Only in the land of Goshen, where the children of Israel were, was there no hail. %%% Mu nsi ey'e Goseni yokka, mwe baali abaana ba Isiraeri, mwe mutaali muzira. 02EXO009.027 And Pharaoh sent, and called for Moses and Aaron, and said unto them, I have sinned this time: the LORD is righteous, and I and my people are wicked. %%% Falaawo n'atuma, n'ayita Musa ne Alooni, n'abagamba nti Nnyonoonye omulundi guno: Mukama ye mutuukirivu, nange n'abantu bange tuli babi. 02EXO009.028 Intreat the LORD (for it is enough) that there be no more mighty thunderings and hail; and I will let you go, and ye shall stay no longer. %%% Musabe Mukama; kubanga okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira bimmaze; nange ndibaleka, muleme okulwawo nate. 02EXO009.029 And Moses said unto him, As soon as I am gone out of the city, I will spread abroad my hands unto the LORD; and the thunder shall cease, neither shall there be any more hail; that thou mayest know how that the earth is the LORD's. %%% Musa n'amugamba nti Bwe ndimala okuva mu kibuga, ne ndyoka mwanjululiza Mukama ebibatu byange; okubwatuka kuliggwaawo, so tewalibeera muzira nate; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama. 02EXO009.030 But as for thee and thy servants, I know that ye will not yet fear the LORD God. %%% Naye ggwe n'abaddu bo, mmanyi nga temulitya kaakano Mukama Katonda. 02EXO009.031 And the flax and the barley was smitten: for the barley was in the ear, and the flax was bolled. %%% Obugoogwa ne sayiri ne bikubibwa: kubanga sayiri yali etanula okubala, n'obugoogwa bwali busansudde. 02EXO009.032 But the wheat and the rie were not smitten: for they were not grown up. %%% Naye eŋŋaano ne kusemesi tebyakubibwa: kubanga byali nga tebinnamera. 02EXO009.033 And Moses went out of the city from Pharaoh, and spread abroad his hands unto the LORD: and the thunders and hail ceased, and the rain was not poured upon the earth. %%% Musa n'ava mu kibuga eri Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye: okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, so enkuba n'etetonnya ku nsi. 02EXO009.034 And when Pharaoh saw that the rain and the hail and the thunders were ceased, he sinned yet more, and hardened his heart, he and his servants. %%% Falaawo bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira n'okubwatuka nga biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be. 02EXO009.035 And the heart of Pharaoh was hardened, neither would he let the children of Israel go; as the LORD had spoken by Moses. %%% Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabaleka abaana ba Isiraeri; nga bwe yayogerera Mukama mu Musa. 02EXO010.001 And the LORD said unto Moses, Go in unto Pharaoh: for I have hardened his heart, and the heart of his servants, that I might shew these my signs before him: %%% Mukama n'agamba Musa nti Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe: 02EXO010.002 And that thou mayest tell in the ears of thy son, and of thy son's son, what things I have wrought in Egypt, and my signs which I have done among them; that ye may know how that I am the LORD. %%% era olyoke obuulire mu matu g'omwana wo ne mu g'omwana w'omwana wo, bye nkoze ku Misiri, n'obubonero bwange bwe nkoze wakati waabwe; mulyoke mumanye nga nze Mukama. 02EXO010.003 And Moses and Aaron came in unto Pharaoh, and said unto him, Thus saith the LORD God of the Hebrews, How long wilt thou refuse to humble thyself before me? let my people go, that they may serve me. %%% Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze. 02EXO010.004 Else, if thou refuse to let my people go, behold, to morrow will I bring the locusts into thy coast: %%% Naye, bw'onoogaana okubaleka abantu bange, laba, jjo ndireeta enzige mu nsalo yo: 02EXO010.005 And they shall cover the face of the earth, that one cannot be able to see the earth: and they shall eat the residue of that which is escaped, which remaineth unto you from the hail, and shall eat every tree which groweth for you out of the field: %%% zirisaanikira kungulu ku nsi, ensi ereme okulabika: zirirya ebisigadde ebyawonawo, omuzira bye gwabalekera, ne zirya buli muti ogubamerera mu nsuku: 02EXO010.006 And they shall fill thy houses, and the houses of all thy servants, and the houses of all the Egyptians; which neither thy fathers, nor thy fathers' fathers have seen, since the day that they were upon the earth unto this day. And he turned himself, and went out from Pharaoh. %%% era ennyumba zo zirijjula, n'ennyumba z'abaddu bo bonna n'ennyumba z'Abamisiri bonna: nga bakitaawo bwe bataalaba newakubadde bakitaabwe ba kitaawo, okuva lwe baabeerawo ku nsi okutuusa leero. N'akyuka, n'ava eri Falaawo. 02EXO010.007 And Pharaoh's servants said unto him, How long shall this man be a snare unto us? let the men go, that they may serve the LORD their God: knowest thou not yet that Egypt is destroyed? %%% Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti Alituusa wa ono okutubeerera omutego? Leka abantu, baweereze Mukama Katonda waabwe: tonnamanya nga Misiri efudde? 02EXO010.008 And Moses and Aaron were brought again unto Pharaoh: and he said unto them, Go, serve the LORD your God: but who are they that shall go? %%% Ne bazzibwa Musa ne Alooni eri Falaawo: n'abagamba nti Mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe: naye b'ani abaligenda? 02EXO010.009 And Moses said, We will go with our young and with our old, with our sons and with our daughters, with our flocks and with our herds will we go; for we must hold a feast unto the LORD. %%% Musa n'ayogera nti Tuligenda n'abaana baffe abato era n'abakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi era n'abaana baffe ab'obuwala, n'endiga zaffe era n'ente zaffe bwe tuligenda; kubanga obubi buli mu maaso gammwe kubanga kitugwanidde ffe okukolera Mukama embaga. 02EXO010.010 And he said unto them, Let the LORD be so with you, as I will let you go, and your little ones: look to it; for evil is before you. %%% N'abagamba nti Mukama abe nammwe nga bwe ndibaleka mmwe n'abaana bammwe abawere: mulabe; 02EXO010.011 Not so: go now ye that are men, and serve the LORD; for that ye did desire. And they were driven out from Pharaoh's presence. %%% Nedda mmwe abasajja abakulu mugende kaakano, mumuweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala. Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo. 02EXO010.012 And the LORD said unto Moses, Stretch out thine hand over the land of Egypt for the locusts, that they may come up upon the land of Egypt, and eat every herb of the land, even all that the hail hath left. %%% Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri wabe enzige, zirinnye ku nsi ey'e Misiri, zirye buli muddo ogw'ensi, byonna byonna omuzira bye gwalekawo. 02EXO010.013 And Moses stretched forth his rod over the land of Egypt, and the LORD brought an east wind upon the land all that day, and all that night; and when it was morning, the east wind brought the locusts. %%% Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku luli obudde okuziba n'okukya; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba ne zireeta enzige. 02EXO010.014 And the locusts went up over all the land of Egypt, and rested in all the coasts of Egypt: very grievous were they; before them there were no such locusts as they, neither after them shall be such. %%% Enzige ne zirinnya ku nsi yonna ey'e Misiri, ne zigwa mu nsalo zonna ez'e Misiri: zaali nzibu nnyo; edda n'edda tewabanga nzige nga ezo, newakubadde ennyuma waazo tewalibeera nga ezo. 02EXO010.015 For they covered the face of the whole earth, so that the land was darkened; and they did eat every herb of the land, and all the fruit of the trees which the hail had left: and there remained not any green thing in the trees, or in the herbs of the field, through all the land of Egypt. %%% Kubanga zaasaanikira kungulu ku nsi yonna, ensi n'efuusibwa ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti, omuzira bye gwalekawo: ne watasigala kintu kibisi, newakubadde omuti newakubadde omuddo ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri. 02EXO010.016 Then Pharaoh called for Moses and Aaron in haste; and he said, I have sinned against the LORD your God, and against you. %%% Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, nammwe. 02EXO010.017 Now therefore forgive, I pray thee, my sin only this once, and intreat the LORD your God, that he may take away from me this death only. %%% Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, mumusabe Mukama Katonda wammwe, anziyeko olumbe luno lwokka. 02EXO010.018 And he went out from Pharaoh, and intreated the LORD. %%% N'ava eri Falaawo, n'asaba Mukama. 02EXO010.019 And the LORD turned a mighty strong west wind, which took away the locusts, and cast them into the Red sea; there remained not one locust in all the coasts of Egypt. %%% Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu; tewaasigala nzige n'emu mu nsalo yonna ey'e Misiri. 02EXO010.020 But the LORD hardened Pharaoh's heart, so that he would not let the children of Israel go. %%% Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka abaana ba Isiraeri. 02EXO010.021 And the LORD said unto Moses, Stretch out thine hand toward heaven, that there may be darkness over the land of Egypt, even darkness which may be felt. %%% Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekiwulikika. 02EXO010.022 And Moses stretched forth his hand toward heaven; and there was a thick darkness in all the land of Egypt three days: %%% Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba mu nsi yonna ey'e Misiri ennaku ssatu; 02EXO010.023 They saw not one another, neither rose any from his place for three days: but all the children of Israel had light in their dwellings. %%% tebaalabagana, newakubadde omuntu yenna teyagolokoka mu kifo kye ennaku ssatu: naye abaana ba Isiraeri bonna baalina omusana mu nju zaabwe. 02EXO010.024 And Pharaoh called unto Moses, and said, Go ye, serve the LORD; only let your flocks and your herds be stayed: let your little ones also go with you. %%% Falaawo n'ayita Musa n'ayogera nti Mugende muweereze Mukama; endiga zammwe n'ente zammwe ze zibazisigala zokka: abaana abawere nabo bagende nammwe. 02EXO010.025 And Moses said, Thou must give us also sacrifices and burnt offerings, that we may sacrifice unto the LORD our God.%%% Musa n'ayogera nti Kikugwanidde nate okutuwa mu mikono gyaffe saddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe. 02EXO010.026 Our cattle also shall go with us; there shall not an hoof be left behind; for thereof must we take to serve the LORD our God; and we know not with what we must serve the LORD, until we come thither. %%% Era n'amagana gaffe galigenda naffe; tewalisigala kinuulo n'ekimu; kubanga kitugwanidde okuzitwalako, tuweereze Mukama, Katonda waffe; era tetumanyi bye tulimuweerezesa Mukama, okutuusa lwe tulituuka eyo. 02EXO010.027 But the LORD hardened Pharaoh's heart, and he would not let them go. %%% Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atayagala kubaleka. 02EXO010.028 And Pharaoh said unto him, Get thee from me, take heed to thyself, see my face no more; for in that day thou seest my face thou shalt die. %%% Falaawo n'amugamba nti Vaawo wendi, weekuume, oleme okulaba amaaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabiramu amaaso gange, olifa. 02EXO010.029 And Moses said, Thou hast spoken well, I will see thy face again no more. %%% Musa n'ayogera nti Oyogedde bulungi; siriraba nate maaso go. 02EXO011.001 And the LORD said unto Moses, Yet will I bring one plague more upon Pharaoh, and upon Egypt; afterwards he will let you go hence: when he shall let you go, he shall surely thrust you out hence altogether. %%% Mukama n'amugamba Musa nti Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu: bw'alibaleka, mazima alibagobera ddala muno. 02EXO011.002 Speak now in the ears of the people, and let every man borrow of his neighbour, and every woman of her neighbour, jewels of silver, and jewels of gold. %%% Yogera kaakano mu matu g'abantu, basabe buli musajja eri muliraanwa we na buli mukazi eri muliraanwa we ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu. 02EXO011.003 And the LORD gave the people favour in the sight of the Egyptians. Moreover the man Moses was very great in the land of Egypt, in the sight of Pharaoh's servants, and in the sight of the people. %%% Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri. Nate omuntu Musa yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri, mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu. 02EXO011.004 And Moses said, Thus saith the LORD, About midnight will I go out into the midst of Egypt: %%% Musa n'ayogera nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Nga mu ttumbi ndifuluma wakati w'e Misiri: 02EXO011.005 And all the firstborn in the land of Egypt shall die, from the first born of Pharaoh that sitteth upon his throne, even unto the firstborn of the maidservant that is behind the mill; and all the firstborn of beasts. %%% n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuuka ku mubereberye w'omuzaana ali ennyuma w'olubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo. 02EXO011.006 And there shall be a great cry throughout all the land of Egypt, such as there was none like it, nor shall be like it any more. %%% Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo newakubadde tekulibaawo nate nga kuno. 02EXO011.007 But against any of the children of Israel shall not a dog move his tongue, against man or beast: that ye may know how that the LORD doth put a difference between the Egyptians and Israel. %%% Naye ku omu mu baana ba Isiraeri embwa terimuwagalako lulimi, ku muntu newakubadde ensolo : mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri ne Isiraeri. 02EXO011.008 And all these thy servants shall come down unto me, and bow down themselves unto me, saying, Get thee out, and all the people that follow thee: and after that I will go out. And he went out from Pharaoh in a great anger. %%% Era abaddu bo bano bonna baliserengeta gye ndi balivuunamira nze, nga boogera nti Genda n'abantu bo bonna abakugoberera: oluvannyuma ndigenda. N'ava eri Falaawo n'obusungu bungi. 02EXO011.009 And the LORD said unto Moses, Pharaoh shall not hearken unto you; that my wonders may be multiplied in the land of Egypt. %%% Mukama n'amugamba Musa nti Falaawo talibawulira: eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri. 02EXO011.010 And Moses and Aaron did all these wonders before Pharaoh: and the LORD hardened Pharaoh's heart, so that he would not let the children of Israel go out of his land. %%% Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo: Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabaleka abaana ba Isiraeri okuva mu nsi ye. 02EXO012.001 And the LORD spake unto Moses and Aaron in the land of Egypt, saying, %%% Mukama n'abagamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti 02EXO012.002 This month shall be unto you the beginning of months: it shall be the first month of the year to you. %%% Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka. 02EXO012.003 Speak ye unto all the congregation of Israel, saying, In the tenth day of this month they shall take to them every man a lamb, according to the house of their fathers, a lamb for an house: %%% Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw'endiga, ng'ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw'endiga buli nnyumba: 02EXO012.004 And if the household be too little for the lamb, let him and his neighbour next unto his house take it according to the number of the souls; every man according to his eating shall make your count for the lamb. %%% era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga. 02EXO012.005 Your lamb shall be without blemish, a male of the first year: ye shall take it out from the sheep, or from the goats: %%% Omwana gw'endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi: 02EXO012.006 And ye shall keep it up until the fourteenth day of the same month: and the whole assembly of the congregation of Israel shall kill it in the evening. %%% muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno: ekkuŋŋaaniro lyonna ery'ekibiina kya Isiraeri baligutta lwaggulo. 02EXO012.007 And they shall take of the blood, and strike it on the two side posts and on the upper door post of the houses, wherein they shall eat it. %%% Era balitwala ku musaayi, baguteeke ku mifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira. 02EXO012.008 And they shall eat the flesh in that night, roast with fire, and unleavened bread; and with bitter herbs they shall eat it. %%% Awo balirya ennyama mu kiro kiri, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezikaawa. 02EXO012.009 Eat not of it raw, nor sodden at all with water, but roast with fire; his head with his legs, and with the purtenance thereof. %%% Temugiryangako mbisi, newakubadde enfumbe n'amazzi wabula enjokye n'omuliro; omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo. 02EXO012.010 And ye shall let nothing of it remain until the morning; and that which remaineth of it until the morning ye shall burn with fire. %%% Nammwe temugiirekangawo okutuusa enkya; naye erekebwako okutuusa enkya muligyokya n'omuliro. 02EXO012.011 And thus shall ye eat it; with your loins girded, your shoes on your feet, and your staff in your hand; and ye shall eat it in haste: it is the LORD's passover. %%% Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama. 02EXO012.012 For I will pass through the land of Egypt this night, and will smite all the firstborn in the land of Egypt, both man and beast; and against all the gods of Egypt I will execute judgment: I am the LORD. %%% Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama. 02EXO012.013 And the blood shall be to you for a token upon the houses where ye are: and when I see the blood, I will pass over you, and the plague shall not be upon you to destroy you, when I smite the land of Egypt. %%% Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri. 02EXO012.014 And this day shall be unto you for a memorial; and ye shall keep it a feast to the LORD throughout your generations; ye shall keep it a feast by an ordinance for ever. %%% Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, na mmwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo. 02EXO012.015 Seven days shall ye eat unleavened bread; even the first day ye shall put away leaven out of your houses: for whosoever eateth leavened bread from the first day until the seventh day, that soul shall be cut off from Israel. %%% Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukuswa; era ne ku lunaku olw'olubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya emigaati egizimbulukuswa okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, omwoyo ogwo gulisalibwa ku Isiraeri. 02EXO012.016 And in the first day there shall be an holy convocation, and in the seventh day there shall be an holy convocation to you; no manner of work shall be done in them, save that which every man must eat, that only may be done of you. %%% Era ku lunaku olw'olubereberye walibabeerera okukuŋŋaana okutukuvu, era ku lunaku olw'omusanvu okukuŋŋaana okutukuvu; emirimu gyonna gyonna gireme okukolebwa mu nnaku ezo, wabula gye yeetaaga buli muntu okulya, egyo gyokka kye kirungi okukolebwa mmwe. 02EXO012.017 And ye shall observe the feast of unleavened bread; for in this selfsame day have I brought your armies out of the land of Egypt: therefore shall ye observe this day in your generations by an ordinance for ever. %%% Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa; kubanga ku lunaku luno lwennyini lwe nziyiddemu eggye lyammwe mu nsi ey'e Misiri: kye munaavanga mulwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna mu tteeka eritaggwaawo. 02EXO012.018 In the first month, on the fourteenth day of the month at even, ye shall eat unleavened bread, until the one and twentieth day of the month at even. %%% Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo, mulirya emigaati egitazimbulukuswa, okutuusa olunaku olw'amakumi abiri mu lumu olweggulo. 02EXO012.019 Seven days shall there be no leaven found in your houses: for whosoever eateth that which is leavened, even that soul shall be cut off from the congregation of Israel, whether he be a stranger, or born in the land. %%% Ennaku musanvu ekizimbulukusa tekirirabika mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya ekizimbulukuse, omwoyo ogwo gulisalibwa ku kibiina kya Isiraeri, bw'aliba munnaggwanga oba nga nzaalwa. 02EXO012.020 Ye shall eat nothing leavened; in all your habitations shall ye eat unleavened bread. %%% Temulyanga ekizimbulukuse; mu bifo byammwe byonna mulyanga emigaati egitazimbulukuswa. 02EXO012.021 Then Moses called for all the elders of Israel, and said unto them, Draw out and take you a lamb according to your families, and kill the passover. %%% Musa n'alyoka abayita abakadde bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti Mulonde mwetwalire abaana b'endiga ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mutte okuyitako. 02EXO012.022 And ye shall take a bunch of hyssop, and dip it in the blood that is in the bason, and strike the lintel and the two side posts with the blood that is in the bason; and none of you shall go out at the door of his house until the morning. %%% Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya. 02EXO012.023 For the LORD will pass through to smite the Egyptians; and when he seeth the blood upon the lintel, and on the two side posts, the LORD will pass over the door, and will not suffer the destroyer to come in unto your houses to smite you. %%% Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuubeeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba. 02EXO012.024 And ye shall observe this thing for an ordinance to thee and to thy sons for ever. %%% Era mulyekuuma ekigambo ekyo ng'etteeka eri ggwe n'eri abaana bo eritaggwaawo. 02EXO012.025 And it shall come to pass, when ye be come to the land which the LORD will give you, according as he hath promised, that ye shall keep this service. %%% Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, muneekuumanga okuweereza kuno. 02EXO012.026 And it shall come to pass, when your children shall say unto you, What mean ye by this service? %%% Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki? 02EXO012.027 That ye shall say, It is the sacrifice of the LORD's passover, who passed over the houses of the children of Israel in Egypt, when he smote the Egyptians, and delivered our houses. And the people bowed the head and worshipped. %%% mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bakutama ne basinza. 02EXO012.028 And the children of Israel went away, and did as the LORD had commanded Moses and Aaron, so did they. %%% Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola. 02EXO012.029 And it came to pass, that at midnight the LORD smote all the firstborn in the land of Egypt, from the firstborn of Pharaoh that sat on his throne unto the firstborn of the captive that was in the dungeon; and all the firstborn of cattle. %%% Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'akuba abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo. 02EXO012.030 And Pharaoh rose up in the night, he, and all his servants, and all the Egyptians; and there was a great cry in Egypt; for there was not a house where there was not one dead. %%% Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu. 02EXO012.031 And he called for Moses and Aaron by night, and said, Rise up, and get you forth from among my people, both ye and the children of Israel; and go, serve the LORD, as ye have said. %%% N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera. 02EXO012.032 Also take your flocks and your herds, as ye have said, and be gone; and bless me also. %%% Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; mumpe omukisa nange. 02EXO012.033 And the Egyptians were urgent upon the people, that they might send them out of the land in haste; for they said, We be all dead men. %%% N'Abamisiri ne babakubiriza abantu, okubanguyiriza okuva mu nsi; kubanga baayogera nti Tufudde fenna. 02EXO012.034 And the people took their dough before it was leavened, their kneadingtroughs being bound up in their clothes upon their shoulders. %%% Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe. 02EXO012.035 And the children of Israel did according to the word of Moses; and they borrowed of the Egyptians jewels of silver, and jewels of gold, and raiment: %%% Abaana ba Isiraeri ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, n'engoye: 02EXO012.036 And the LORD gave the people favour in the sight of the Egyptians, so that they lent unto them such things as they required. And they spoiled the Egyptians. %%% Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri. 02EXO012.037 And the children of Israel journeyed from Rameses to Succoth, about six hundred thousand on foot that were men, beside children. %%% Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu Lameseesi okutuuka mu Sukkosi, ng'obusiriivu mukaaga abaatambula n'ebigere abasajja, era n'abaana. 02EXO012.038 And a mixed multitude went up also with them; and flocks, and herds, even very much cattle. %%% Era n'ekibiina ekya bannaggwanga ne balinnya wamu nabo; n'endiga n'ente, ebisibo bingi nnyo. 02EXO012.039 And they baked unleavened cakes of the dough which they brought forth out of Egypt, for it was not leavened; because they were thrust out of Egypt, and could not tarry, neither had they prepared for themselves any victual. %%% Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna: 02EXO012.040 Now the sojourning of the children of Israel, who dwelt in Egypt, was four hundred and thirty years. %%% N'okutuula kw'abaana ba Isiraeri, kwe baatuula mu Misiri, gyali emyaka ebikumi bina mu asatu. 02EXO012.041 And it came to pass at the end of the four hundred and thirty years, even the selfsame day it came to pass, that all the hosts of the LORD went out from the land of Egypt. %%% Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri. 02EXO012.042 It is a night to be much observed unto the LORD for bringing them out from the land of Egypt: this is that night of the LORD to be observed of all the children of Israel in their generations. %%% Kye kiro ekisaanira okukyekuuma ennyo eri Mukama okubafulumya mu nsi ey'e Misiri: ekyo kye kiro kiri ekya Mukama ekisaanira abaana bonna aba Isiraeri okukyekuumanga ennyo mu mirembe gyabwe gyonna. 02EXO012.043 And the LORD said unto Moses and Aaron, This is the ordinance of the passover: There shall no stranger eat thereof: %%% Mukama n'abagamba Musa ne Alooni nti Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna talyangako: 02EXO012.044 But every man's servant that is bought for money, when thou hast circumcised him, then shall he eat thereof. %%% naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okumukomola, n'alyoka alyako. 02EXO012.045 A foreigner and an hired servant shall not eat thereof. %%% Omugenyi n'omuwereeza aweebwa empeera tebalyangako. 02EXO012.046 In one house shall it be eaten; thou shalt not carry forth ought of the flesh abroad out of the house; neither shall ye break a bone thereof. %%% Mu nnyumba emu mw'eneeriirwanga; totwalanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo; so temumenyanga ggumba lyayo. 02EXO012.047 All the congregation of Israel shall keep it. %%% Ekibiina kyonna ekya Isiraeri balikukwata. 02EXO012.048 And when a stranger shall sojourn with thee, and will keep the passover to the LORD, let all his males be circumcised, and then let him come near and keep it; and he shall be as one that is born in the land: for no uncircumcised person shall eat thereof. %%% Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okwekuuma okuyitako eri Mukama, abasajja be bonna bakomolebwenga, alyoke asembere akwekuume; anaabeeranga ng'enzaalwa: naye ataakomolebwenga yenna talyangako. 02EXO012.049 One law shall be to him that is homeborn, and unto the stranger that sojourneth among you. %%% Walimubeerera etteeka limu enzaalwa n'omugenyi asula omumwe. 02EXO012.050 Thus did all the children of Israel; as the LORD commanded Moses and Aaron, so did they. %%% Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri bonna; nga Mukama bwe yabalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola. 02EXO012.051 And it came to pass the selfsame day, that the LORD did bring the children of Israel out of the land of Egypt by their armies. %%% Awo ku lunaku luli Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri mu ggye lyabwe. 02EXO013.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 02EXO013.002 Sanctify unto me all the firstborn, whatsoever openeth the womb among the children of Israel, both of man and of beast: it is mine. %%% Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo: ye wange. 02EXO013.003 And Moses said unto the people, Remember this day, in which ye came out from Egypt, out of the house of bondage; for by strength of hand the LORD brought you out from this place: there shall no leavened bread be eaten. %%% Musa n'abagamba abantu nti Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: kubanga mu maanyi g'omukono Mukama mwe yabaggya mu kifo ekyo: tebalyanga ku migaati egizimbulukuswa. 02EXO013.004 This day came ye out in the month Abib. %%% Ku lunaku luno bwe munaavaamu mu mwezi ogwa Abibu. 02EXO013.005 And it shall be when the LORD shall bring thee into the land of the Canaanites, and the Hittites, and the Amorites, and the Hivites, and the Jebusites, which he sware unto thy fathers to give thee, a land flowing with milk and honey, that thou shalt keep this service in this month. %%% Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajja bo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno. 02EXO013.006 Seven days thou shalt eat unleavened bread, and in the seventh day shall be a feast to the LORD. %%% Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, era ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga embaga eri Mukama. 02EXO013.007 Unleavened bread shall be eaten seven days; and there shall no leavened bread be seen with thee, neither shall there be leaven seen with thee in all thy quarters. %%% Emigaati egitazimbulukuswa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukuswa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna. 02EXO013.008 And thou shalt shew thy son in that day, saying, This is done because of that which the LORD did unto me when I came forth out of Egypt. %%% Era onoomugambanga omwana wo olunaku luli, ng'oyogera nti Olw'ebigambo Mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri. 02EXO013.009 And it shall be for a sign unto thee upon thine hand, and for a memorial between thine eyes, that the LORD's law may be in thy mouth: for with a strong hand hath the LORD brought thee out of Egypt. %%% Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo wakati w'amaaso go, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko: kubanga mu mukono ogw'amaanyi Mukama mwe yakuggira mu Misiri. 02EXO013.010 Thou shalt therefore keep this ordinance in his season from year to year. %%% Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka. 02EXO013.011 And it shall be when the LORD shall bring thee into the land of the Canaanites, as he sware unto thee and to thy fathers, and shall give it thee, %%% Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa, 02EXO013.012 That thou shalt set apart unto the LORD all that openeth the matrix, and every firstling that cometh of a beast which thou hast; the males shall be the LORD's. %%% onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama. 02EXO013.013 And every firstling of an ass thou shalt redeem with a lamb; and if thou wilt not redeem it, then thou shalt break his neck: and all the firstborn of man among thy children shalt thou redeem. %%% Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onoogimenyanga obulago: era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga. 02EXO013.014 And it shall be when thy son asketh thee in time to come, saying, What is this? that thou shalt say unto him, By strength of hand the LORD brought us out from Egypt, from the house of bondage: %%% Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti Kiki kino? onoomugambanga nti Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: 02EXO013.015 And it came to pass, when Pharaoh would hardly let us go, that the LORD slew all the firstborn in the land of Egypt, both the firstborn of man, and the firstborn of beast: therefore I sacrifice to the LORD all that openeth the matrix, being males; but all the firstborn of my children I redeem. %%% awo alwatuuka Falaawo bw'ataatuleka wabula olw'empaka, Mukama n'atta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo: kyenva mmuwa Mukama buli kiggulanda ekisajja, okuba ssaddaaka; naye ababereberye bonna ab'abaana bange mbanunula. 02EXO013.016 And it shall be for a token upon thine hand, and for frontlets between thine eyes: for by strength of hand the LORD brought us forth out of Egypt. %%% N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, n'ebiteekebwa wakati w'amaaso go: kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri. 02EXO013.017 And it came to pass, when Pharaoh had let the people go, that God led them not through the way of the land of the Philistines, although that was near; for God said, Lest peradventure the people repent when they see war, and they return to Egypt: %%% Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri: 02EXO013.018 But God led the people about, through the way of the wilderness of the Red sea: and the children of Israel went up harnessed out of the land of Egypt. %%% naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri. 02EXO013.019 And Moses took the bones of Joseph with him: for he had straitly sworn the children of Israel, saying, God will surely visit you; and ye shall carry up my bones away hence with you. %%% Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye: kubanga yabalayiza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe. 02EXO013.020 And they took their journey from Succoth, and encamped in Etham, in the edge of the wilderness. %%% Ne bava mu Sukkosi okutambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu. 02EXO013.021 And the LORD went before them by day in a pillar of a cloud, to lead them the way; and by night in a pillar of fire, to give them light; to go by day and night: %%% Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro; 02EXO013.022 He took not away the pillar of the cloud by day, nor the pillar of fire by night, from before the people. %%% empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaggwaawo mu maaso g'abantu. 02EXO014.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 02EXO014.002 Speak unto the children of Israel, that they turn and encamp before Pihahiroth, between Migdol and the sea, over against Baalzephon: before it shall ye encamp by the sea. %%% Bagambe abaana ba Isiraeri badde ennyuma basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni: emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja. 02EXO014.003 For Pharaoh will say of the children of Israel, They are entangled in the land, the wilderness hath shut them in. %%% Falaawo aliboogerako abaana ba Isiraeri nti Bazingiziddwa mu nsi, eddungu libasibye. 02EXO014.004 And I will harden Pharaoh's heart, that he shall follow after them; and I will be honoured upon Pharaoh, and upon all his host; that the Egyptians may know that I am the LORD. And they did so. %%% Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera ennyuma waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama. Bwe batyo bwe baakola. 02EXO014.005 And it was told the king of Egypt that the people fled: and the heart of Pharaoh and of his servants was turned against the people, and they said, Why have we done this, that we have let Israel go from serving us? %%% Ne bamugamba kabaka w'e Misiri nti Abantu badduse: omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza? 02EXO014.006 And he made ready his chariot, and took his people with him: %%% N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye: 02EXO014.007 And he took six hundred chosen chariots, and all the chariots of Egypt, and captains over every one of them. %%% n'atwala amagaali lukaaga amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna. 02EXO014.008 And the LORD hardened the heart of Pharaoh king of Egypt, and he pursued after the children of Israel: and the children of Israel went out with an high hand. %%% Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'agoberera abaana ba Isiraeri: kubanga abaana ba Isiraeri baafuluma n'okwewaana. 02EXO014.009 But the Egyptians pursued after them, all the horses and chariots of Pharaoh, and his horsemen, and his army, and overtook them encamping by the sea, beside Pihahiroth, before Baalzephon. %%% Abamisiri ne babagoberera ennyuma, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni. 02EXO014.010 And when Pharaoh drew nigh, the children of Israel lifted up their eyes, and, behold, the Egyptians marched after them; and they were sore afraid: and the children of Israel cried out unto the LORD. %%% Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera ennyuma waabwe: ne batya nnyo: abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama. 02EXO014.011 And they said unto Moses, Because there were no graves in Egypt, hast thou taken us away to die in the wilderness? wherefore hast thou dealt thus with us, to carry us forth out of Egypt? %%% Ne bagamba Musa nti Kubanga tewali ntaana mu Misiri kyovudde otuleeta tufiire mu ddungu? Kiki ekikutukozezza bw'oti, okutuggya mu Misiri? 02EXO014.012 Is not this the word that we did tell thee in Egypt, saying, Let us alone, that we may serve the Egyptians? For it had been better for us to serve the Egyptians, than that we should die in the wilderness. %%% Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti Tuleke tuweereze Abamisiri? Kubanga kirungi okubaweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu. 02EXO014.013 And Moses said unto the people, Fear ye not, stand still, and see the salvation of the LORD, which he will shew to you to day: for the Egyptians whom ye have seen to day, ye shall see them again no more for ever. %%% Musa n'abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero : kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna. 02EXO014.014 The LORD shall fight for you, and ye shall hold your peace. %%% Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika. 02EXO014.015 And the LORD said unto Moses, Wherefore criest thou unto me? speak unto the children of Israel, that they go forward: %%% Mukama n'agamba Musa nti Kiki ekikunkaabizza? Bagambe abaana ba Isiraeri bagende mu maaso. 02EXO014.016 But lift thou up thy rod, and stretch out thine hand over the sea, and divide it: and the children of Israel shall go on dry ground through the midst of the sea. %%% Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu: n'abaana ba Isiraeri banaagenda wakati w'ennyanja ku lukalu. 02EXO014.017 And I, behold, I will harden the hearts of the Egyptians, and they shall follow them: and I will get me honour upon Pharaoh, and upon all his host, upon his chariots, and upon his horsemen. %%% Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera: nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo, ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala. 02EXO014.018 And the Egyptians shall know that I am the LORD, when I have gotten me honour upon Pharaoh, upon his chariots, and upon his horsemen. %%% Abamisiri balimanya nga nze Mukama bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala. 02EXO014.019 And the angel of God, which went before the camp of Israel, removed and went behind them; and the pillar of the cloud went from before their face, and stood behind them: %%% Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda ennyuma waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira ennyuma waabwe; 02EXO014.020 And it came between the camp of the Egyptians and the camp of Israel; and it was a cloud and darkness to them, but it gave light by night to these: so that the one came not near the other all the night. %%% n'ejja n'ebeera wakati w'eggye ly'e Misiri n'eggye lya Isiraeri; ne waba ekire n'ekizikiza, naye n'ereeta omusana ekiro : abo ne batabasemberera bali ekiro kyonna. 02EXO014.021 And Moses stretched out his hand over the sea; and the LORD caused the sea to go back by a strong east wind all that night, and made the sea dry land, and the waters were divided. %%% Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu. 02EXO014.022 And the children of Israel went into the midst of the sea upon the dry ground: and the waters were a wall unto them on their right hand, and on their left. %%% Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu: amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 02EXO014.023 And the Egyptians pursued, and went in after them to the midst of the sea, even all Pharaoh's horses, his chariots, and his horsemen. %%% Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira ennyuma waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abantu be abeebagala. 02EXO014.024 And it came to pass, that in the morning watch the LORD looked unto the host of the Egyptians through the pillar of fire and of the cloud, and troubled the host of the Egyptians, %%% Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri. 02EXO014.025 And took off their chariot wheels, that they drave them heavily: so that the Egyptians said, Let us flee from the face of Israel; for the LORD fighteth for them against the Egyptians. %%% N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa: Abamisiri ne boogera nti Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri. 02EXO014.026 And the LORD said unto Moses, Stretch out thine hand over the sea, that the waters may come again upon the Egyptians, upon their chariots, and upon their horsemen. %%% Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe. 02EXO014.027 And Moses stretched forth his hand over the sea, and the sea returned to his strength when the morning appeared; and the Egyptians fled against it; and the LORD overthrew the Egyptians in the midst of the sea. %%% Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja. 02EXO014.028 And the waters returned, and covered the chariots, and the horsemen, and all the host of Pharaoh that came into the sea after them; there remained not so much as one of them. %%% Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja ennyuma waabwe; tewaasigala n'omu mu bo. 02EXO014.029 But the children of Israel walked upon dry land in the midst of the sea; and the waters were a wall unto them on their right hand, and on their left. %%% Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono. 02EXO014.030 Thus the LORD saved Israel that day out of the hand of the Egyptians; and Israel saw the Egyptians dead upon the sea shore. %%% Bw'atyo Mukama n'alokola Isiraeri ku lunaku luli mu mukono gw'Abamisiri; Isiraeri ne balaba Abamisiri nga bafudde ku mabbali g'ennyanja. 02EXO014.031 And Israel saw that great work which the LORD did upon the Egyptians: and the people feared the LORD, and believed the LORD, and his servant Moses. %%% Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne bamutya Mukama; ne bamukkiriza Mukama n'omuddu we Musa. 02EXO015.001 Then sang Moses and the children of Israel this song unto the LORD, and spake, saying, I will sing unto the LORD, for he hath triumphed gloriously: the horse and his rider hath he thrown into the sea. %%% Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bamuyimbira Mukama oluyimba luno ne boogera nti Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala: Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga. 02EXO015.002 The LORD is my strength and song, and he is become my salvation: he is my God, and I will prepare him an habitation; my father's God, and I will exalt him. %%% Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, Anfuukidde obulokozi bwange: Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza; Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza. 02EXO015.003 The LORD is a man of war: the LORD is his name. %%% Mukama ye muzira okulwana: Mukama lye linnya lye, 02EXO015.004 Pharaoh's chariots and his host hath he cast into the sea: his chosen captains also are drowned in the Red sea. %%% Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja: N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu. 02EXO015.005 The depths have covered them: they sank into the bottom as a stone. %%% Obuziba bubasaanikidde: Basse mu buziba ng'ejjinja. 02EXO015.006 Thy right hand, O LORD, is become glorious in power: thy right hand, O LORD, hath dashed in pieces the enemy. %%% Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gulina ekitiibwa mu maanyi, Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe. 02EXO015.007 And in the greatness of thine excellency thou hast overthrown them that rose up against thee: thou sentest forth thy wrath, which consumed them as stubble. %%% Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba: Otuma obusuugu bwo, ne bubasiriiza ng'ebisasiro. 02EXO015.008 And with the blast of thy nostrils the waters were gathered together, the floods stood upright as an heap, and the depths were congealed in the heart of the sea. %%% Era n'omukka ogw'omu nnyindo zo amazzi gaalinnyisibwa. Ebitaba ne biyimirira entuumo; Obuziba ne bukwata mu mutima ogw'ennyanja. 02EXO015.009 The enemy said, I will pursue, I will overtake, I will divide the spoil; my lust shall be satisfied upon them; I will draw my sword, my hand shall destroy them. %%% Omulabe n'ayogera nti Naagoberera, naatuuka, naagereka omunyago: Okwegomba kwange kunakkusibsva ku bo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza. 02EXO015.010 Thou didst blow with thy wind, the sea covered them: they sank as lead in the mighty waters. %%% Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira: Baasaanawo nga lisasi mu mazzi ag'amaanyi. 02EXO015.011 Who is like unto thee, O LORD, among the gods? who is like thee, glorious in holiness, fearful in praises, doing wonders? %%% Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu, Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola amagero? 02EXO015.012 Thou stretchedst out thy right hand, the earth swallowed them. %%% Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, Ensi n'ebamira. 02EXO015.013 Thou in thy mercy hast led forth the people which thou hast redeemed: thou hast guided them in thy strength unto thy holy habitation. %%% Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula: N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu. 02EXO015.014 The people shall hear, and be afraid: sorrow shall take hold on the inhabitants of Palestina. %%% Amawanga gaawulira, ne gakankana: Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti. 02EXO015.015 Then the dukes of Edom shall be amazed; the mighty men of Moab, trembling shall take hold upon them; all the inhabitants of Canaan shall melt away. %%% Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya; Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana kubakwata: Abatuula mu Bukanani bonna bayenjebuka. 02EXO015.016 Fear and dread shall fall upon them; by the greatness of thine arm they shall be as still as a stone; till thy people pass over, O LORD, till the people pass over, which thou hast purchased. %%% Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be weefunira. 02EXO015.017 Thou shalt bring them in, and plant them in the mountain of thine inheritance, in the place, O LORD, which thou hast made for thee to dwell in, in the Sanctuary, O LORD, which thy hands have established. %%% Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza. 02EXO015.018 The LORD shall reign for ever and ever. %%% Mukama alifuga emirembe n'emirembe. 02EXO015.019 For the horse of Pharaoh went in with his chariots and with his horsemen into the sea, and the LORD brought again the waters of the sea upon them; but the children of Israel went on dry land in the midst of the sea. %%% Kubanga embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja. 02EXO015.020 And Miriam the prophetess, the sister of Aaron, took a timbrel in her hand; and all the women went out after her with timbrels and with dances. %%% Miryamu, nabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina. 02EXO015.021 And Miriam answered them, Sing ye to the LORD, for he hath triumphed gloriously; the horse and his rider hath he thrown into the sea. %%% Miryamu n'abaddamu nti Mumuyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja. 02EXO015.022 So Moses brought Israel from the Red sea, and they went out into the wilderness of Shur; and they went three days in the wilderness, and found no water. %%% Musa n'atambuza Isiraeri okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne bavaamu ne batuuka mu ddungu lya Ssuuli; ne bagenda ennaku ssatu mu ddungu ne batalaba mazzi. 02EXO015.023 And when they came to Marah, they could not drink of the waters of Marah, for they were bitter: therefore the name of it was called Marah. %%% Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa : kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala. 02EXO015.024 And the people murmured against Moses, saying, What shall we drink? %%% Abantu ne bamwemulugunyiza Musa, nga boogera nti Tunaanywa ki? 02EXO015.025 And he cried unto the LORD; and the LORD shewed him a tree, which when he had cast into the waters, the waters were made sweet: there he made for them a statute and an ordinance, and there he proved them, %%% N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'e mpisa, n'abakemera awo; 02EXO015.026 And said, If thou wilt diligently hearken to the voice of the LORD thy God, and wilt do that which is right in his sight, and wilt give ear to his commandments, and keep all his statutes, I will put none of these diseases upon thee, which I have brought upon the Egyptians: for I am the LORD that healeth thee. %%% n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya. 02EXO015.027 And they came to Elim, where were twelve wells of water, and threescore and ten palm trees: and they encamped there by the waters. %%% Ne batuuka Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu: ne basula awo awali amazzi. 02EXO016.001 And they took their journey from Elim, and all the congregation of the children of Israel came unto the wilderness of Sin, which is between Elim and Sinai, on the fifteenth day of the second month after their departing out of the land of Egypt. %%% Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri. 02EXO016.002 And the whole congregation of the children of Israel murmured against Moses and Aaron in the wilderness: %%% Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu: 02EXO016.003 And the children of Israel said unto them, Would to God we had died by the hand of the LORD in the land of Egypt, when we sat by the flesh pots, and when we did eat bread to the full; for ye have brought us forth into this wilderness, to kill this whole assembly with hunger. %%% abaana ba Isiraeri ne babagamba nti Waakiri twandifiiridde olw'omukono gwa Mukama mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala. 02EXO016.004 Then said the LORD unto Moses, Behold, I will rain bread from heaven for you; and the people shall go out and gather a certain rate every day, that I may prove them, whether they will walk in my law, or no. %%% Mukama n'alyoka agamba Musa nti Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu. 02EXO016.005 And it shall come to pass, that on the sixth day they shall prepare that which they bring in; and it shall be twice as much as they gather daily. %%% Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku. 02EXO016.006 And Moses and Aaron said unto all the children of Israel, At even, then ye shall know that the LORD hath brought you out from the land of Egypt: %%% Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti Olweggulo lwe mulimanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri: 02EXO016.007 And in the morning, then ye shall see the glory of the LORD; for that he heareth your murmurings against the LORD: and what are we, that ye murmur against us? %%% era enkya lwe muliraba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe ku Mukama: naffe ffe baani, n'okwemuluguaya ne mwemulugunyiza ffe? 02EXO016.008 And Moses said, This shall be, when the LORD shall give you in the evening flesh to eat, and in the morning bread to the full; for that the LORD heareth your murmurings which ye murmur against him: and what are we? your murmurings are not against us, but against the LORD. %%% Musa n'ayogera nti Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza: naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama. 02EXO016.009 And Moses spake unto Aaron, Say unto all the congregation of the children of Israel, Come near before the LORD: for he hath heard your murmurings. %%% Musa n'agamba Alooni nti Bagambe ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Musembere mu maaso ga Mukama: kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe. 02EXO016.010 And it came to pass, as Aaron spake unto the whole congregation of the children of Israel, that they looked toward the wilderness, and, behold, the glory of the LORD appeared in the cloud. %%% Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mu kama ne kirabika mu kire. 02EXO016.011 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 02EXO016.012 I have heard the murmurings of the children of Israel: speak unto them, saying, At even ye shall eat flesh, and in the morning ye shall be filled with bread; and ye shall know that I am the LORD your God. %%% Mpulidde okwemulugunya kw'abaaaa ba Isiraeri: obagambe, ng'oyogera nti Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe. 02EXO016.013 And it came to pass, that at even the quails came up, and covered the camp: and in the morning the dew lay round about the host. %%% Awo olweggulo obugubi ne bulyoka bulinnya ne busaanikira olusiisira: enkya olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira. 02EXO016.014 And when the dew that lay was gone up, behold, upon the face of the wilderness there lay a small round thing, as small as the hoar frost on the ground. %%% Olufu olwagwa bwe lwaggwaako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akatono ng'omusulo omukwafu oguba ku nsi, 02EXO016.015 And when the children of Israel saw it, they said one to another, It is manna: for they wist not what it was. And Moses said unto them, This is the bread which the LORD hath given you to eat. %%% Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti Kiki kino? kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya. 02EXO016.016 This is the thing which the LORD hath commanded, Gather of it every man according to his eating, an omer for every man, according to the number of your persons; take ye every man for them which are in his tents. %%% Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, mulikitwala, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye. 02EXO016.017 And the children of Israel did so, and gathered, some more, some less. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono. 02EXO016.018 And when they did mete it with an omer, he that gathered much had nothing over, and he that gathered little had no lack; they gathered every man according to his eating. %%% Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya. 02EXO016.019 And Moses said, Let no man leave of it till the morning. %%% Musa n'abagamba nti Omuntu talekaawo okutuusa enkya. 02EXO016.020 Notwithstanding they hearkened not unto Moses; but some of them left of it until the morning, and it bred worms, and stank: and Moses was wroth with them. %%% Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu. 02EXO016.021 And they gathered it every morning, every man according to his eating: and when the sun waxed hot, it melted. %%% Ne bakunnaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya: era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa. 02EXO016.022 And it came to pass, that on the sixth day they gathered twice as much bread, two omers for one man: and all the rulers of the congregation came and told Moses.%%% Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi ebiri emmere, buli muntu kkomeri bbiri: abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa 02EXO016.023 And he said unto them, This is that which the LORD hath said, To morrow is the rest of the holy sabbath unto the LORD: bake that which ye will bake to day, and seethe that ye will seethe; and that which remaineth over lay up for you to be kept until the morning. %%% N'abagamba nti Ekyo Mukama kye yayogera nti Enkya kye kiwummulo ekikulu, ssabiiti entukuvu eri Mukama: mwokye bye mwagala mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya. 02EXO016.024 And they laid it up till the morning, as Moses bade: and it did not stink, neither was there any worm therein. %%% Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira: n'etewunya, so ne mutaba na nvunyu. 02EXO016.025 And Moses said, Eat that to day; for to day is a sabbath unto the LORD: to day ye shall not find it in the field. %%% Musa n'ayogera nti Mulye eno leero; kubanga leero ye ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale. 02EXO016.026 Six days ye shall gather it; but on the seventh day, which is the sabbath, in it there shall be none. %%% Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti, okwo teribeerawo. 02EXO016.027 And it came to pass, that there went out some of the people on the seventh day for to gather, and they found none. %%% Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bagenda abamu ku bantu okukuŋŋaanya, ne batagiraba. 02EXO016.028 And the LORD said unto Moses, How long refuse ye to keep my commandments and my laws? %%% Mukama n'amugamba Musa nti Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange? 02EXO016.029 See, for that the LORD hath given you the sabbath, therefore he giveth you on the sixth day the bread of two days; abide ye every man in his place, let no man go out of his place on the seventh day. %%% Mulabe, kubanga Mukama abawadde ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey’ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu. 02EXO016.030 So the people rested on the seventh day. %%% Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu. 02EXO016.031 And the house of Israel called the name thereof Manna: and it was like coriander seed, white; and the taste of it was like wafers made with honey. %%% Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Manu: n'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki. 02EXO016.032 And Moses said, This is the thing which the LORD commandeth, Fill an omer of it to be kept for your generations; that they may see the bread wherewith I have fed you in the wilderness, when I brought you forth from the land of Egypt. %%% Musa n'ayogera nti Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri. 02EXO016.033 And Moses said unto Aaron, Take a pot, and put an omer full of manna therein, and lay it up before the LORD, to be kept for your generations. %%% Musa n'amugamba Alooni nti Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde manu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe. 02EXO016.034 As the LORD commanded Moses, so Aaron laid it up before the Testimony, to be kept. %%% Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo. 02EXO016.035 And the children of Israel did eat manna forty years, until they came to a land inhabited; they did eat manna, until they came unto the borders of the land of Canaan. %%% Abaana ba Isiraeri ne baliira manu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya manu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani. 02EXO016.036 Now an omer is the tenth part of an ephah. %%% Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa. 02EXO017.001 And all the congregation of the children of Israel journeyed from the wilderness of Sin, after their journeys, according to the commandment of the LORD, and pitched in Rephidim: and there was no water for the people to drink. %%% Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, mu bisulo byabwe, mu kiragiro kya Mukama, ne basula mu Lefidimu; so nga tewali mazzi abantu banywe. 02EXO017.002 Wherefore the people did chide with Moses, and said, Give us water that we may drink. And Moses said unto them, Why chide ye with me? wherefore do ye tempt the LORD? %%% Abantu kyebaava bamuyombesa Musa, ne boogera nti Tuwe amazzi tunywe. Musa n'abagamba nti Lwaki okunnyombesa nze? Lwaki okumukema Mukama? 02EXO017.004 And the people thirsted there for water; and the people murmured against Moses, and said, Wherefore is this that thou hast brought us up out of Egypt, to kill us and our children and our cattle with thirst? %%% Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne bamwemulugunyiza Musa, ne boogera nti Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe n'ebisibo byaffe n'ennyonta? 02EXO017.004 And Moses cried unto the LORD, saying, What shall I do unto this people? they be almost ready to stone me. %%% Musa n'amukaabirira Mukama ng'ayogera nti Naabakola ntya abantu bano? babulako katono bankube amayinja. 02EXO017.005 And the LORD said unto Moses, Go on before the people, and take with thee of the elders of Israel; and thy rod, wherewith thou smotest the river, take in thine hand, and go. %%% Mukama n'amugamba Musa nti Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende. 02EXO017.006 Behold, I will stand before thee there upon the rock in Horeb; and thou shalt smite the rock, and there shall come water out of it, that the people may drink. And Moses did so in the sight of the elders of Israel. %%% Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri. 02EXO017.007 And he called the name of the place Massah, and Meribah, because of the chiding of the children of Israel, and because they tempted the LORD, saying, Is the LORD among us, or not? %%% N'atuuma ekifo erinnya lyakyo Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki? 02EXO017.008 Then came Amalek, and fought with Israel in Rephidim. %%% Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa Isiraeri mu Lefidimu. 02EXO017.009 And Moses said unto Joshua, Choose us out men, and go out, fight with Amalek: to morrow I will stand on the top of the hill with the rod of God in mine hand. %%% Musa n'agamba Yoswa nti Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki: enkya naayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange. 02EXO017.010 So Joshua did as Moses had said to him, and fought with Amalek: and Moses, Aaron, and Hur went up to the top of the hill. %%% N'akola bw'atyo Yoswa nga bwe yamulagira Musa, n'alwana n'Abamaleki : Musa ne Alooni ne Kuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi. 02EXO017.011 And it came to pass, when Moses held up his hand, that Israel prevailed: and when he let down his hand, Amalek prevailed. %%% Awo olwatuuka Musa bwe yayimusa omukono gwe, Isiraeri n'agoba: bwe yagussa omukono gwe, Abamaleki ne bagoba. 02EXO017.012 But Moses' hands were heavy; and they took a stone, and put it under him, and he sat thereon; and Aaron and Hur stayed up his hands, the one on the one side, and the other on the other side; and his hands were steady until the going down of the sun. %%% Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuli ne bawanirira emikomo gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa. 02EXO017.013 And Joshua discomfited Amalek and his people with the edge of the sword. %%% Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be n'obwogi bw'ekitala. 02EXO017.014 And the LORD said unto Moses, Write this for a memorial in a book, and rehearse it in the ears of Joshua: for I will utterly put out the remembrance of Amalek from under heaven. %%% Mukama n'agamba Musa nti Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjuluzo okibuulire Yoswa mu matu ge: nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu. 02EXO017.015 And Moses built an altar, and called the name of it Jehovahnissi: %%% Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa bendera yange: 02EXO017.016 For he said, Because the LORD hath sworn that the LORD will have war with Amalek from generation to generation. %%% n'ayogera nti Mukama alayidde: Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe. 02EXO018.001 When Jethro, the priest of Midian, Moses' father in law, heard of all that God had done for Moses, and for Israel his people, and that the LORD had brought Israel out of Egypt; %%% Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri. 02EXO018.002 Then Jethro, Moses' father in law, took Zipporah, Moses' wife, after he had sent her back, %%% Yesero, mukoddomi wa Musa, n'atwala Zipola, mukazi wa Musa, bwe yamugoba, 02EXO018.003 And her two sons; of which the name of the one was Gershom; for he said, I have been an alien in a strange land: %%% ye n'abaana be babiri; erinnya ly'omu mu bo Gerusomu; kubanga yayogera nti Nali mugenyi mu nsi etali yange: 02EXO018.004 And the name of the other was Eliezer; for the God of my father, said he, was mine help, and delivered me from the sword of Pharaoh: %%% n'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti Katonda wa kitange yali mubeezi wange n'amponya mu kitala kya Falaawo: 02EXO018.005 And Jethro, Moses' father in law, came with his sons and his wife unto Moses into the wilderness, where he encamped at the mount of God: %%% Yesero, mukoddomi wa Musa, n'ajja n'abaana be ne mukazi we eri Musa mu ddungu eryo gye yasula ku lusozi lwa Katonda: 02EXO018.006 And he said unto Moses, I thy father in law Jethro am come unto thee, and thy wife, and her two sons with her. %%% n'agamba Musa nti Nze mukoddomi wo Yesero nzize gy'oli ne mukazi wo n'abaana be bombi wamu naye. 02EXO018.007 And Moses went out to meet his father in law, and did obeisance, and kissed him; and they asked each other of their welfare; and they came into the tent. %%% Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti Otyanno? ne bayingira mu weema. 02EXO018.008 And Moses told his father in law all that the LORD had done unto Pharaoh and to the Egyptians for Israel's sake, and all the travail that had come upon them by the way, and how the LORD delivered them. %%% Musa n'abuuiira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era Mukama bwe yabawonya. 02EXO018.009 And Jethro rejoiced for all the goodness which the LORD had done to Israel, whom he had delivered out of the hand of the Egyptians. %%% Yesero n'asanyuka ku lw'obulungi bwonna Mukama bwe yakola Isiraeri, kubanga yabalokola mu mukono gw'Abamisiri. 02EXO018.010 And Jethro said, Blessed be the LORD, who hath delivered you out of the hand of the Egyptians, and out of the hand of Pharaoh, who hath delivered the people from under the hand of the Egyptians. %%% Yesero n'ayogera nti Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri. 02EXO018.011 Now I know that the LORD is greater than all gods: for in the thing wherein they dealt proudly he was above them. %%% Kaakano ntegedde nti Mukama ye mukulu okusinga bakatonda bonna: weewaawo mu kigambo mwe beenyumiririza ku bo. 02EXO018.012 And Jethro, Moses' father in law, took a burnt offering and sacrifices for God: and Aaron came, and all the elders of Israel, to eat bread with Moses' father in law before God. %%% Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda: Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda. 02EXO018.013 And it came to pass on the morrow, that Moses sat to judge the people: and the people stood by Moses from the morning unto the evening. %%% Awo olwatuuka enkya Musa n'atuula okubalamula abantu: abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okusooka enkya okutuusa olweggulo. 02EXO018.014 And when Moses' father in law saw all that he did to the people, he said, What is this thing that thou doest to the people? why sittest thou thyself alone, and all the people stand by thee from morning unto even? %%% Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde. 02EXO018.015 And Moses said unto his father in law, Because the people come unto me to enquire of God: %%% Musa n'agamba mukoddomi we nti Kubanga abantu bajja gye ndi okubuuza Katonda: 02EXO018.016 When they have a matter, they come unto me; and I judge between one and another, and I do make them know the statutes of God, and his laws. %%% bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasaalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye. 02EXO018.017 And Moses' father in law said unto him, The thing that thou doest is not good. %%% Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti Ekigambo ky'okola si kirungi. 02EXO018.018 Thou wilt surely wear away, both thou, and this people that is with thee: for this thing is too heavy for thee; thou art not able to perform it thyself alone. %%% Tolirema kusiriira ggwe n'abantu bano abali awamu naawe: kubanga ekigambo kizitowa okusinga bw'oyinza ggwe: toyinza kukituukiriza wekka. 02EXO018.019 Hearken now unto my voice, I will give thee counsel, and God shall be with thee: Be thou for the people to God-ward, that thou mayest bring the causes unto God. %%% Kaakano wulira eddoboozi lyange, naakuteeseza ebigambo, Katonda abe naawe: obabeerere abantu eri Katonda, oleete ensonga eri Katonda 02EXO018.020 And thou shalt teach them ordinances and laws, and shalt shew them the way wherein they must walk, and the work that they must do. %%% naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola. 02EXO018.021 Moreover thou shalt provide out of all the people able men, such as fear God, men of truth, hating covetousness; and place such over them, to be rulers of thousands, and rulers of hundreds, rulers of fifties, and rulers of tens: %%% Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda, ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi: 02EXO018.022 And let them judge the people at all seasons: and it shall be, that every great matter they shall bring unto thee, but every small matter they shall judge: so shall it be easier for thyself, and they shall bear the burden with thee. %%% babasalire abantu omusango ebiseera byonna: kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka: bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe. 02EXO018.023 If thou shalt do this thing, and God command thee so, then thou shalt be able to endure, and all this people shall also go to their place in peace. %%% Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe. 02EXO018.024 So Moses hearkened to the voice of his father in law, and did all that he had said. %%% Awo Musa n'awulira eddoboozi lya mukoddomi we, n'akola byonna bye yayogera. 02EXO018.025 And Moses chose able men out of all Israel, and made them heads over the people, rulers of thousands, rulers of hundreds, rulers of fifties, and rulers of tens. %%% Musa n'alonda abasajja abasaanye mu Isiraeri yenna, n'abakuza ku bantu, abakulu ab'enkumi, abakulu b'ebikumi, abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi. 02EXO018.026 And they judged the people at all seasons: the hard causes they brought unto Moses, but every small matter they judged themselves. %%% Ne balamulanga abantu ebiseera byonna; ensonga enzibu baazireeteranga Musa, naye buli nsonga ntono baagiramulanga bokka. 02EXO018.027 And Moses let his father in law depart; and he went his way into his own land. %%% Musa n'asiibula mukoddomi we; n'agenda mu nsi ye ye. 02EXO019.001 In the third month, when the children of Israel were gone forth out of the land of Egypt, the same day came they into the wilderness of Sinai. %%% Mu mwezi ogw'okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri, ku lunaku luli ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi. 02EXO019.002 For they were departed from Rephidim, and were come to the desert of Sinai, and had pitched in the wilderness; and there Israel camped before the mount. %%% Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi. 02EXO019.003 And Moses went up unto God, and the LORD called unto him out of the mountain, saying, Thus shalt thou say to the house of Jacob, and tell the children of Israel; %%% Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri 02EXO019.004 Ye have seen what I did unto the Egyptians, and how I bare you on eagles' wings, and brought you unto myself. %%% nti Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n'ebiwaawaatiro by'empungu era bwe nnabaleeta gye ndi. 02EXO019.005 Now therefore, if ye will obey my voice indeed, and keep my covenant, then ye shall be a peculiar treasure unto me above all people: for all the earth is mine: %%% Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna kubanga ensi yonna yange: 02EXO019.006 And ye shall be unto me a kingdom of priests, and an holy nation. These are the words which thou shalt speak unto the children of Israel. %%% nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu. Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri. 02EXO019.007 And Moses came and called for the elders of the people, and laid before their faces all these words which the LORD commanded him. %%% Musa n'ajja n'ayita abakadde ab'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira. 02EXO019.008 And all the people answered together, and said, All that the LORD hath spoken we will do. And Moses returned the words of the people unto the LORD. %%% Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti Byonna bye yayogera Mukama tulibikola. Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama. 02EXO019.009 And the LORD said unto Moses, Lo, I come unto thee in a thick cloud, that the people may hear when I speak with thee, and believe thee for ever. And Moses told the words of the people unto the LORD. %%% Mukama n'amugamba Musa nti Laba, njija gy'oli mu kire ekizimbye, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna. Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu. 02EXO019.010 And the LORD said unto Moses, Go unto the people, and sanctify them to day and to morrow, and let them wash their clothes, %%% Mukama n'agamba Musa nti Genda eri abantu, obatukuze leero ne jjo, era bayoze engoye zaabwe, 02EXO019.011 And be ready against the third day: for the third day the LORD will come down in the sight of all the people upon mount Sinai. %%% beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu: kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi. 02EXO019.012 And thou shalt set bounds unto the people round about, saying, Take heed to yourselves, that ye go not up into the mount, or touch the border of it: whosoever toucheth the mount shall be surely put to death: %%% Naawe olibateekera abantu ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo: buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa: 02EXO019.013 There shall not an hand touch it, but he shall surely be stoned, or shot through; whether it be beast or man, it shall not live: when the trumpet soundeth long, they shall come up to the mount. %%% omukono gwonna guleme okumukwatako, naye talirema kukubibwa mayinja oba kufumitwa; oba ensolo, oba muntu, taliba mulamu: eŋŋombe bw'erivuga ennyo, balisemberera olusozi. 02EXO019.014 And Moses went down from the mount unto the people, and sanctified the people; and they washed their clothes. %%% Musa n'akka ng'ava mu lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe. 02EXO019.015 And he said unto the people, Be ready against the third day: come not at your wives. %%% N'agamba abantu nti Mweteekereteekere alunaku olw'okusatu: temusemberera mukazi. 02EXO019.016 And it came to pass on the third day in the morning, that there were thunders and lightnings, and a thick cloud upon the mount, and the voice of the trumpet exceeding loud; so that all the people that was in the camp trembled. %%% Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekizimbye ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana. 02EXO019.017 And Moses brought forth the people out of the camp to meet with God; and they stood at the nether part of the mount. %%% Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi. 02EXO019.018 And mount Sinai was altogether on a smoke, because the LORD descended upon it in fire: and the smoke thereof ascended as the smoke of a furnace, and the whole mount quaked greatly. %%% Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 02EXO019.019 And when the voice of the trumpet sounded long, and waxed louder and louder, Moses spake, and God answered him by a voice. %%% Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi. 02EXO019.020 And the LORD came down upon mount Sinai, on the top of the mount: and the LORD called Moses up to the top of the mount; and Moses went up. %%% Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi: Musa n'alinnya. 02EXO019.021 And the LORD said unto Moses, Go down, charge the people, lest they break through unto the LORD to gaze, and many of them perish. %%% Mukama n'agamba Musa nti Serengeta, olagire abantu, baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okubula mu bo. 02EXO019.022 And let the priests also, which come near to the LORD, sanctify themselves, lest the LORD break forth upon them. %%% Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okugwa ku bo. 02EXO019.023 And Moses said unto the LORD, The people cannot come up to mount Sinai: for thou chargedst us, saying, Set bounds about the mount, and sanctify it. %%% Musa n'agamba Mukama nti Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi: kubanga watulagira, ng'oyogera nti Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze. 02EXO019.024 And the LORD said unto him, Away, get thee down, and thou shalt come up, thou, and Aaron with thee: but let not the priests and the people break through to come up unto the LORD, lest he break forth upon them. %%% Mukama n'amugamba nti Genda, oserengete; naawe olirinnya, ggwe ne Alooni wamu naawe; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okugwa ku bo. 02EXO019.025 So Moses went down unto the people, and spake unto them. %%% Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira. 02EXO020.001 And God spake all these words, saying, %%% Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti 02EXO020.002 I am the LORD thy God, which have brought thee out of the land of Egypt, out of the house of bondage. %%% Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu. 02EXO020.003 Thou shalt have no other gods before me. %%% Tobanga na bakatonda balala we ndi. 02EXO020.004 Thou shalt not make unto thee any graven image, or any likeness of any thing that is in heaven above, or that is in the earth beneath, or that is in the water under the earth: %%% Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka: 02EXO020.005 Thou shalt not bow down thyself to them, nor serve them: for I the LORD thy God am a jealous God, visiting the iniquity of the fathers upon the children unto the third and fourth generation of them that hate me; %%% tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa; 02EXO020.006 And shewing mercy unto thousands of them that love me, and keep my commandments. %%% era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange. 02EXO020.007 Thou shalt not take the name of the LORD thy God in vain; for the LORD will not hold him guiltless that taketh his name in vain. %%% Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye. 02EXO020.008 Remember the sabbath day, to keep it holy. %%% Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga. 02EXO020.009 Six days shalt thou labour, and do all thy work: %%% Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna: 02EXO020.010 But the seventh day is the sabbath of the LORD thy God: in it thou shalt not do any work, thou, nor thy son, nor thy daughter, thy manservant, nor thy maidservant, nor thy cattle, nor thy stranger that is within thy gates: %%% naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo: 02EXO020.011 For in six days the LORD made heaven and earth, the sea, and all that in them is, and rested the seventh day: wherefore the LORD blessed the sabbath day, and hallowed it. %%% kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza. 02EXO020.012 Honour thy father and thy mother: that thy days may be long upon the land which the LORD thy God giveth thee. %%% Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo. 02EXO020.013 Thou shalt not kill. %%% Tottanga. 02EXO020.014 Thou shalt not commit adultery. %%% Toyendanga. 02EXO020.015 Thou shalt not steal. %%% Tobbanga. 02EXO020.016 Thou shalt not bear false witness against thy neighbour. %%% Towaayirizanga muntu munno. 02EXO020.017 Thou shalt not covet thy neighbour's house, thou shalt not covet thy neighbour's wife, nor his manservant, nor his maidservant, nor his ox, nor his ass, nor any thing that is thy neighbour's. %%% Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno. 02EXO020.018 And all the people saw the thunderings, and the lightnings, and the noise of the trumpet, and the mountain smoking: and when the people saw it, they removed, and stood afar off. %%% Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala. 02EXO020.019 And they said unto Moses, Speak thou with us, and we will hear: but let not God speak with us, lest we die. %%% Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa. 02EXO020.020 And Moses said unto the people, Fear not: for God is come to prove you, and that his fear may be before your faces, that ye sin not. %%% Musa n'agamba abantu nti Temutya: kubanga Katonda azze okubakema, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona. 02EXO020.021 And the people stood afar off, and Moses drew near unto the thick darkness where God was. %%% Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali. 02EXO020.022 And the LORD said unto Moses, Thus thou shalt say unto the children of Israel, Ye have seen that I have talked with you from heaven. %%% Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe. 02EXO020.023 Ye shall not make with me gods of silver, neither shall ye make unto you gods of gold. %%% Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b'effeeza, newakubadde bakatonda b'ezzaabu, temubeekoleranga. 02EXO020.024 An altar of earth thou shalt make unto me, and shalt sacrifice thereon thy burnt offerings, and thy peace offerings, thy sheep, and thine oxen: in all places where I record my name I will come unto thee, and I will bless thee. %%% Ekyoto eky'ettaka onkolere, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo: buli wantu we njijukirizanga erinnya lyange ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa. 02EXO020.025 And if thou wilt make me an altar of stone, thou shalt not build it of hewn stone: for if thou lift up thy tool upon it, thou hast polluted it. %%% Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa. 02EXO020.026 Neither shalt thou go up by steps unto mine altar, that thy nakedness be not discovered thereon. %%% So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako. 02EXO021.001 Now these are the judgments which thou shalt set before them. %%% Egyo gye misango gy'oliteeka mu maaso gaabwe. 02EXO021.002 If thou buy an Hebrew servant, six years he shall serve: and in the seventh he shall go out free for nothing. %%% Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga: awo ogw'omusanvu aligenda n'eddembe bwereere. 02EXO021.003 If he came in by himself, he shall go out by himself: if he were married, then his wife shall go out with him. %%% Oba nga yajja omu, agendanga omu: oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye. 02EXO021.004 If his master have given him a wife, and she have born him sons or daughters; the wife and her children shall be her master's, and he shall go out by himself. %%% Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu. 02EXO021.005 And if the servant shall plainly say, I love my master, my wife, and my children; I will not go out free: %%% Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti Njagala mukama wange; mukazi wange; n'abaana bange; saagala kugenda n'eddembe: 02EXO021.006 Then his master shall bring him unto the judges; he shall also bring him to the door, or unto the door post; and his master shall bore his ear through with an aul; and he shall serve him for ever. %%% Awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mufuubeeto; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna. 02EXO021.007 And if a man sell his daughter to be a maidservant, she shall not go out as the menservants do. %%% Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, tagendanga ng'abaddu bwe bagenda. 02EXO021.008 If she please not her master, who hath betrothed her to himself, then shall he let her be redeemed: to sell her unto a strange nation he shall have no power, seeing he hath dealt deceitfully with her. %%% Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga okununulibwa: okumuguza bannaggwanga taliragirwa, kubanga amulimbye. 02EXO021.009 And if he have betrothed her unto his son, he shall deal with her after the manner of daughters. %%% Oba nga amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala. 02EXO021.010 If he take him another wife; her food, her raiment, and her duty of marriage, shall he not diminish. %%% Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obugole tabikendeezangako. 02EXO021.011 And if he do not these three unto her, then shall she go out free without money. %%% Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali bintu. 02EXO021.012 He that smiteth a man, so that he die, shall be surely put to death. %%% Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa. 02EXO021.013 And if a man lie not in wait, but God deliver him into his hand; then I will appoint thee a place whither he shall flee. %%% Era omuntu bw'atateeganga, naye Katonda n'amuteeka mu mukono gwe; oyo ndikulagirira ekifo ky'aliddukiramu. 02EXO021.014 But if a man come presumptuously upon his neighbour, to slay him with guile; thou shalt take him from mine altar, that he may die. %%% Omuntu bw'ajjanga ng'agira ekyejo ku munne, okumutta n'olukwe; omuggyanga ku kyoto kyange, afe. 02EXO021.015 And he that smiteth his father, or his mother, shall be surely put to death. %%% Akubanga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa. 02EXO021.016 And he that stealeth a man, and selleth him, or if he be found in his hand, he shall surely be put to death. %%% Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa. 02EXO021.017 And he that curseth his father, or his mother, shall surely be put to death. %%% Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa. 02EXO021.018 And if men strive together, and one smite another with a stone, or with his fist, and he die not, but keepeth his bed: %%% Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda: 02EXO021.019 If he rise again, and walk abroad upon his staff, then shall he that smote him be quit: only he shall pay for the loss of his time, and shall cause him to be thoroughly healed. %%% bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango: naye amugattanga olw'ebiseera bye bye yamwonoonera, era alimuwonyeza ddala. 02EXO021.020 And if a man smite his servant, or his maid, with a rod, and he die under his hand; he shall be surely punished. %%% Era omuntu bw'akubanga omuddu we oba muzaana we n'omuggo bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubonerezebwa. 02EXO021.021 Notwithstanding, if he continue a day or two, he shall not be punished: for he is his money. %%% Naye bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga: kubanga oli bye bintu bye. 02EXO021.022 If men strive, and hurt a woman with child, so that her fruit depart from her, and yet no mischief follow: he shall be surely punished, according as the woman's husband will lay upon him; and he shall pay as the judges determine. %%% Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto; olubuto ne luvaamu, naye akabi konna ne katabaawo: talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga. 02EXO021.023 And if any mischief follow, then thou shalt give life for life, %%% Naye akabi bwe kabangawo, owangayo obulamu olw'obulamu, 02EXO021.024 Eye for eye, tooth for tooth, hand for hand, foot for foot, %%% eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere, 02EXO021.025 Burning for burning, wound for wound, stripe for stripe. %%% okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa. 02EXO021.026 And if a man smite the eye of his servant, or the eye of his maid, that it perish; he shall let him go free for his eye's sake. %%% Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye. 02EXO021.027 And if he smite out his manservant's tooth, or his maidservant's tooth; he shall let him go free for his tooth's sake. %%% Omuntu bw'akubanga erinnyo ly'omuddu we oba erinnyo ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye. 02EXO021.028 If an ox gore a man or a woman, that they die: then the ox shall be surely stoned, and his flesh shall not be eaten; but the owner of the ox shall be quit. %%% Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremanga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango. 02EXO021.029 But if the ox were wont to push with his horn in time past, and it hath been testified to his owner, and he hath not kept him in, but that he hath killed a man or a woman; the ox shall be stoned, and his owner also shall be put to death. %%% Naye ente nga yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga amusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nannyiniyo attibwanga. 02EXO021.030 If there be laid on him a sum of money, then he shall give for the ransom of his life whatsoever is laid upon him. %%% Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe. 02EXO021.031 Whether he have gored a son, or have gored a daughter, according to this judgment shall it be done unto him. %%% Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangako omusango gwe gumu. 02EXO021.032 If the ox shall push a manservant or a maidservant; he shall give unto their master thirty shekels of silver, and the ox shall be stoned. %%% Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza amakumi asatu, era n'ente ekubibwanga amayinja. 02EXO021.033 And if a man shall open a pit, or if a man shall dig a pit, and not cover it, and an ox or an ass fall therein; %%% Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu, 02EXO021.034 The owner of the pit shall make it good, and give money unto the owner of them; and the dead beast shall be his. %%% nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nannyinizo, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye. 02EXO021.035 And if one man's ox hurt another's, that he die; then they shall sell the live ox, and divide the money of it; and the dead ox also they shall divide. %%% Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga. 02EXO021.036 Or if it be known that the ox hath used to push in time past, and his owner hath not kept him in; he shall surely pay ox for ox; and the dead shall be his own. %%% Oba bwe kimanyibwanga nti ente yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye. 02EXO022.001 If a man shall steal an ox, or a sheep, and kill it, or sell it; he shall restore five oxen for an ox, and four sheep for a sheep. %%% Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga. 02EXO022.002 If a thief be found breaking up, and be smitten that he die, there shall no blood be shed for him. %%% Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe. 02EXO022.003 If the sun be risen upon him, there shall be blood shed for him; for he should make full restitution; if he have nothing, then he shall be sold for his theft. %%% Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe: kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe. 02EXO022.004 If the theft be certainly found in his hand alive, whether it be ox, or ass, or sheep; he shall restore double. %%% Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri. 02EXO022.005 If a man shall cause a field or vineyard to be eaten, and shall put in his beast, and shall feed in another man's field; of the best of his own field, and of the best of his own vineyard, shall he make restitution. %%% Omuntu bw'aliisanga olusuku oba nnimiro y'emizabbibu, bw'agirekanga ensolo ye n'erya ku lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga. 02EXO022.006 If fire break out, and catch in thorns, so that the stacks of corn, or the standing corn, or the field, be consumed therewith; he that kindled the fire shall surely make restitution. %%% Omuliro bwe gwakanga ne gulinnya mu maggwa, emitwalo gy'eŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa. 02EXO022.007 If a man shall deliver unto his neighbour money or stuff to keep, and it be stolen out of the man's house; if the thief be found, let him pay double. %%% Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba bintu, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri. 02EXO022.008 If the thief be not found, then the master of the house shall be brought unto the judges, to see whether he have put his hand unto his neighbour's goods. %%% Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne. 02EXO022.009 For all manner of trespass, whether it be for ox, for ass, for sheep, for raiment, or for any manner of lost thing, which another challengeth to be his, the cause of both parties shall come before the judges; and whom the judges shall condemn, he shall pay double unto his neighbour. %%% Kubanga buli kigambo eky'okwonoona, oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti Kye kino, ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oli Katonda gw'asaliranga omusango aliwanga emirundi ebiri. 02EXO022.010 If a man deliver unto his neighbour an ass, or an ox, or a sheep, or any beast, to keep; and it die, or be hurt, or driven away, no man seeing it: %%% Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba nte, oba ndiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba kufaafaagana, oba okugobebwa nga tewali muntu alaba: 02EXO022.011 Then shall an oath of the LORD be between them both, that he hath not put his hand unto his neighbour's goods; and the owner of it shall accept thereof, and he shall not make it good. %%% ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga. 02EXO022.012 And if it be stolen from him, he shall make restitution unto the owner thereof. %%% Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nannyiniyo. 02EXO022.013 If it be torn in pieces, then let him bring it for witness, and he shall not make good that which was torn. %%% Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa. 02EXO022.014 And if a man borrow ought of his neighbour, and it be hurt, or die, the owner thereof being not with it, he shall surely make it good. %%% Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga taliiwo nannyinikyo, talemanga kumuliyira. 02EXO022.015 But if the owner thereof be with it, he shall not make it good: if it be an hired thing, it came for his hire. %%% Nannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga: bwe kibanga eky'empeera, nga kyajja lwa mpeera yaakyo olw'okupangisa. 02EXO022.016 And if a man entice a maid that is not betrothed, and lie with her, he shall surely endow her to be his wife. %%% Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we. 02EXO022.017 If her father utterly refuse to give her unto him, he shall pay money according to the dowry of virgins. %%% Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato. 02EXO022.018 Thou shalt not suffer a witch to live. %%% Omukazi omulogo tomulekanga mulamu. 02EXO022.019 Whosoever lieth with a beast shall surely be put to death. %%% Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa. 02EXO022.020 He that sacrificeth unto any god, save unto the LORD only, he shall be utterly destroyed. %%% Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikirizibwanga ddala. 02EXO022.021 Thou shalt neither vex a stranger, nor oppress him: for ye were strangers in the land of Egypt. %%% Era munnaggwanga tomwonoonanga, so tomukolanga bubi: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri. 02EXO022.022 Ye shall not afflict any widow, or fatherless child. %%% Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga. 02EXO022.023 If thou afflict them in any wise, and they cry at all unto me, I will surely hear their cry; %%% Bw'onoobabonyaabonyanga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaba kwabwe; 02EXO022.024 And my wrath shall wax hot, and I will kill you with the sword; and your wives shall be widows, and your children fatherless. %%% era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa. 02EXO022.025 If thou lend money to any of my people that is poor by thee, thou shalt not be to him as an usurer, neither shalt thou lay upon him usury. %%% Bw'owolanga buli omu mu bantu bange ali naawe effeeza nga mwavu, tomubeereranga ng'omubanzi, so tomusaliranga magoba. 02EXO022.026 If thou at all take thy neighbour's raiment to pledge, thou shalt deliver it unto him by that the sun goeth down: %%% Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, omuddizangayo enjuba nga tennagwa: 02EXO022.027 For that is his covering only, it is his raiment for his skin: wherein shall he sleep? and it shall come to pass, when he crieth unto me, that I will hear; for I am gracious. %%% kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe: aneebikka ki? awo, bw'anankaabiranga, naawuliranga; kubanga nnina ekisa. 02EXO022.028 Thou shalt not revile the gods, nor curse the ruler of thy people. %%% Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo. 02EXO022.029 Thou shalt not delay to offer the first of thy ripe fruits, and of thy liquors: the firstborn of thy sons shalt thou give unto me. %%% Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga. 02EXO022.030 Likewise shalt thou do with thine oxen, and with thy sheep: seven days it shall be with his dam; on the eighth day thou shalt give it me. %%% Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze. 02EXO022.031 And ye shall be holy men unto me: neither shall ye eat any flesh that is torn of beasts in the field; ye shall cast it to the dogs. %%% Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi: kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa. 02EXO023.001 Thou shalt not raise a false report: put not thine hand with the wicked to be an unrighteous witness. %%% Tokkirizanga kigambo kya bulimba: toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba. 02EXO023.002 Thou shalt not follow a multitude to do evil; neither shalt thou speak in a cause to decline after many to wrest judgment: %%% Togobereranga bangi okukola obubi; so toyogeranga mu nsonga okyame eri abangu okukyusa omusango: 02EXO023.003 Neither shalt thou countenance a poor man in his cause. %%% so tomusalirizanga omwavu mu nsonga ye. 02EXO023.004 If thou meet thine enemy's ox or his ass going astray, thou shalt surely bring it back to him again. %%% Bw'osanganga ente ey'omulabe wo oba ndogoyi ye ng'ekyama, tolemanga kugimuleetera nate. 02EXO023.005 If thou see the ass of him that hateth thee lying under his burden, and wouldest forbear to help him, thou shalt surely help with him. %%% Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egalamizibbwa wansi w'omugugu gwayo, bw'oyagalanga obutamuyamba, tolemanga kumuyamba. 02EXO023.006 Thou shalt not wrest the judgment of thy poor in his cause. %%% Tokyusanga musango gwa mwavu wo mu nsonga ye. 02EXO023.007 Keep thee far from a false matter; and the innocent and righteous slay thou not: for I will not justify the wicked. %%% Weebalamanga mu kigambo eky'obulimba; so tomuttanga atalina kabi n'omutuukirivu: kubanga sirifuula omubi okubeera omutuukirivu. 02EXO023.008 And thou shalt take no gift: for the gift blindeth the wise, and perverteth the words of the righteous. %%% Era toweebwanga kirabo: kubanga ekirabo kibaziba amaaso abatunula, kikyusa ebigambo by'abatuukirivu. 02EXO023.009 Also thou shalt not oppress a stranger: for ye know the heart of a stranger, seeing ye were strangers in the land of Egypt. %%% Tokolanga bubi munnaggwanga: kubanga mmwe mumanyi omutima gw'omunnaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri. 02EXO023.010 And six years thou shalt sow thy land, and shalt gather in the fruits thereof: %%% Era emyaka mukaaga osiganga ensi yo, n'okuŋŋaanyanga ebibala byayo: 02EXO023.011 But the seventh year thou shalt let it rest and lie still; that the poor of thy people may eat: and what they leave the beasts of the field shall eat. In like manner thou shalt deal with thy vineyard, and with thy oliveyard. %%% naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye : gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni. 02EXO023.012 Six days thou shalt do thy work, and on the seventh day thou shalt rest: that thine ox and thine ass may rest, and the son of thy handmaid, and the stranger, may be refreshed. %%% Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga: ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi. 02EXO023.013 And in all things that I have said unto you be circumspect: and make no mention of the name of other gods, neither let it be heard out of thy mouth. %%% Era mu bigambo byonna bye nnabagamba, mwekuumanga: so toyogeranga n'akatono erinnya lya bakatonda abalala newakubadde okuwulikika mu kamwa ko. 02EXO023.014 Three times thou shalt keep a feast unto me in the year. %%% Buli mwaka emirundi esatu oneekuumiranga embaga. 02EXO023.015 Thou shalt keep the feast of unleavened bread: (thou shalt eat unleavened bread seven days, as I commanded thee, in the time appointed of the month Abib; for in it thou camest out from Egypt: and none shall appear before me empty:) %%% Embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ogyekuumanga: ennaku musanvu olyanga egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu (kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri); so temulabikanga busa mu maaso gange n'omu: 02EXO023.016 And the feast of harvest, the firstfruits of thy labours, which thou hast sown in the field: and the feast of ingathering, which is in the end of the year, when thou hast gathered in thy labours out of the field. %%% era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro: era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro. 02EXO023.017 Three times in the year all thy males shall appear before the LORD God. %%% Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maaso ga Mukama Katonda. 02EXO023.018 Thou shalt not offer the blood of my sacrifice with leavened bread; neither shall the fat of my sacrifice remain until the morning. %%% Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'emigaati egizimbulukuswa; so n'amasavu ag'embaga yange tegasigalangawo ekiro kyonna okutuuka enkya. 02EXO023.019 The first of the firstfruits of thy land thou shalt bring into the house of the LORD thy God. Thou shalt not seethe a kid in his mother's milk. %%% Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina wagwo. 02EXO023.020 Behold, I send an Angel before thee, to keep thee in the way, and to bring thee into the place which I have prepared. %%% Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka. 02EXO023.021 Beware of him, and obey his voice, provoke him not; for he will not pardon your transgressions: for my name is in him. %%% Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye. 02EXO023.022 But if thou shalt indeed obey his voice, and do all that I speak; then I will be an enemy unto thine enemies, and an adversary unto thine adversaries. %%% Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza. 02EXO023.023 For mine Angel shall go before thee, and bring thee in unto the Amorites, and the Hittites, and the Perizzites, and the Canaanites, the Hivites, and the Jebusites: and I will cut them off. %%% Kubanga malayika wange alikulembera mu maaso go, alikuyingiza eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi, n'eri Omukanani, n'eri Omukiivi, n'eri Omuyebusi: nange ndibazikiriza. 02EXO023.024 Thou shalt not bow down to their gods, nor serve them, nor do after their works: but thou shalt utterly overthrow them, and quite break down their images. %%% Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe: naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe. 02EXO023.025 And ye shall serve the LORD your God, and he shall bless thy bread, and thy water; and I will take sickness away from the midst of thee. %%% Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe. 02EXO023.026 There shall nothing cast their young, nor be barren, in thy land: the number of thy days I will fulfil. %%% Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo: omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza. 02EXO023.027 I will send my fear before thee, and will destroy all the people to whom thou shalt come, and I will make all thine enemies turn their backs unto thee. %%% Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna. 02EXO023.028 And I will send hornets before thee, which shall drive out the Hivite, the Canaanite, and the Hittite, from before thee. %%% Era ndisindika ennumba mu maaso go, eribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go. 02EXO023.029 I will not drive them out from before thee in one year; lest the land become desolate, and the beast of the field multiply against thee. %%% Siribagoba mu maaso go mu mwaka ogumu; ensi ereme okuzika, so n'ensolo ey'omu nsiko ereme okweyongera ku ggwe. 02EXO023.030 By little and little I will drive them out from before thee, until thou be increased, and inherit the land. %%% Katono katono ndibagoba mu maaso go, okutuusa lw'olyeyongera, n'osikira ensi. 02EXO023.031 And I will set thy bounds from the Red sea even unto the sea of the Philistines, and from the desert unto the river: for I will deliver the inhabitants of the land into your hand; and thou shalt drive them out before thee. %%% Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga: kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go. 02EXO023.032 Thou shalt make no covenant with them, nor with their gods. %%% Tolagaananga ndagaano nabo, so ne bakatonda baabwe. 02EXO023.033 They shall not dwell in thy land, lest they make thee sin against me: for if thou serve their gods, it will surely be a snare unto thee. %%% Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze: kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika. 02EXO024.001 And he said unto Moses, Come up unto the LORD, thou, and Aaron, Nadab, and Abihu, and seventy of the elders of Israel; and worship ye afar off. %%% N'agamba Musa nti Linnya eri Mukama, ggwe ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri; era musinzize wala: 02EXO024.002 And Moses alone shall come near the LORD: but they shall not come nigh; neither shall the people go up with him. %%% Musa yekka asemberere Mukama; naye bo baleme okusembera so abantu baleme okulinnya awamu naye. 02EXO024.003 And Moses came and told the people all the words of the LORD, and all the judgments: and all the people answered with one voice, and said, All the words which the LORD hath said will we do. %%% Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'emisango gyonna: abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola. 02EXO024.004 And Moses wrote all the words of the LORD, and rose up early in the morning, and builded an altar under the hill, and twelve pillars, according to the twelve tribes of Israel. %%% Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri. 02EXO024.005 And he sent young men of the children of Israel, which offered burnt offerings, and sacrificed peace offerings of oxen unto the LORD. %%% N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bookya ebyokwokya, ne bawaayo ebiweebwayo olw'emirembe eby'ente eri Mukama. 02EXO024.006 And Moses took half of the blood, and put it in basons; and half of the blood he sprinkled on the altar. %%% Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto. 02EXO024.007 And he took the book of the covenant, and read in the audience of the people: and they said, All that the LORD hath said will we do, and be obedient. %%% N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'asoma mu matu g'abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by'ayogedde tulibikola, era tuliwulira. 02EXO024.008 And Moses took the blood, and sprinkled it on the people, and said, Behold the blood of the covenant, which the LORD hath made with you concerning all these words. %%% Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna. 02EXO024.009 Then went up Moses, and Aaron, Nadab, and Abihu, and seventy of the elders of Israel: %%% Musa n'alyoka alinnya, ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri: 02EXO024.010 And they saw the God of Israel: and there was under his feet as it were a paved work of a sapphire stone, and as it were the body of heaven in his clearness. %%% ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala. 02EXO024.011 And upon the nobles of the children of Israel he laid not his hand: also they saw God, and did eat and drink. %%% So ku bakungu b'abaana ba Isiraeri n'atateekako mukono gwe: ne bamulaba Katonda, ne balya ne banywa: 02EXO024.012 And the LORD said unto Moses, Come up to me into the mount, and be there: and I will give thee tables of stone, and a law, and commandments which I have written; that thou mayest teach them. %%% Mukama n'agamba Musa nti Linnya gye ndi ku lusozi, obeereyo : nange ndikuwa ebipande by'amayinja, n'amateeka n'ekiragiro, bye mpandiise, obiyigirize. 02EXO024.013 And Moses rose up, and his minister Joshua: and Moses went up into the mount of God. %%% Musa n'agolokoka ne Yoswa omuweereza we: Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda. 02EXO024.014 And he said unto the elders, Tarry ye here for us, until we come again unto you: and, behold, Aaron and Hur are with you: if any man have any matters to do, let him come unto them. %%% N'agamba abakadde nti Mutulindirire wano, okutuusa lwe tulibajjira nate: ne Alooni ne Kuuli, laba, bali wamu nammwe: buli alina ensonga, asemberere bo. 02EXO024.015 And Moses went up into the mount, and a cloud covered the mount. %%% Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi. 02EXO024.016 And the glory of the LORD abode upon mount Sinai, and the cloud covered it six days: and the seventh day he called unto Moses out of the midst of the cloud. %%% Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga: ku lunaku olw'omusanvu n'ayita Musa ng'ayima wakati w'ekire. 02EXO024.017 And the sight of the glory of the LORD was like devouring fire on the top of the mount in the eyes of the children of Israel. %%% Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 02EXO024.018 And Moses went into the midst of the cloud, and gat him up into the mount: and Moses was in the mount forty days and forty nights. %%% Musa n'ayingira wakati mu kire, n'alinnya ku lusozi: Musa n'amala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro. 02EXO25.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 02EXO25.002 Speak unto the children of Israel, that they bring me an offering: of every man that giveth it willingly with his heart ye shall take my offering. %%% Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange. 02EXO025.003 And this is the offering which ye shall take of them; gold, and silver, and brass, %%% Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo; 02EXO025.004 And blue, and purple, and scarlet, and fine linen, and goats' hair, %%% n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; 02EXO025.005 And rams' skins dyed red, and badgers' skins, and shittim wood, %%% n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; 02EXO025.006 Oil for the light, spices for anointing oil, and for sweet incense, %%% amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; 02EXO025.007 Onyx stones, and stones to be set in the ephod, and in the breastplate. %%% amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba. 02EXO025.008 And let them make me a sanctuary; that I may dwell among them. %%% Era Bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe. 02EXO025.009 According to all that I shew thee, after the pattern of the tabernacle, and the pattern of all the instruments thereof, even so shall ye make it. %%% Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola. 02EXO025.010 And they shall make an ark of shittim wood: two cubits and a half shall be the length thereof, and a cubit and a half the breadth thereof, and a cubit and a half the height thereof. %%% Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. 02EXO025.011 And thou shalt overlay it with pure gold, within and without shalt thou overlay it, and shalt make upon it a crown of gold round about. %%% Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO025.012 And thou shalt cast four rings of gold for it, and put them in the four corners thereof; and two rings shall be in the one side of it, and two rings in the other side of it. %%% Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri. 02EXO025.013 And thou shalt make staves of shittim wood, and overlay them with gold. %%% Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikkako zaabu. 02EXO025.014 And thou shalt put the staves into the rings by the sides of the ark, that the ark may be borne with them. %%% Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esituli bwenga n'egyo. 02EXO025.015 The staves shall be in the rings of the ark: they shall not be taken from it. %%% Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu. 02EXO025.016 And thou shalt put into the ark the testimony which I shall give thee. %%% Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa. 02EXO025.017 And thou shalt make a mercy seat of pure gold: two cubits and a half shall be the length thereof, and a cubit and a half the breadth thereof. %%% Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo. 02EXO025.018 And thou shalt make two cherubims of gold, of beaten work shalt thou make them, in the two ends of the mercy seat. %%% Era olikola ba kerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira. 02EXO025.019 And make one cherub on the one end, and the other cherub on the other end: even of the mercy seat shall ye make the cherubims on the two ends thereof. %%% Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri. 02EXO025.020 And the cherubims shall stretch forth their wings on high, covering the mercy seat with their wings, and their faces shall look one to another; toward the mercy seat shall the faces of the cherubims be. %%% Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira. 02EXO025.021 And thou shalt put the mercy seat above upon the ark; and in the ark thou shalt put the testimony that I shall give thee. %%% Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa. 02EXO025.022 And there I will meet with thee, and I will commune with thee from above the mercy seat, from between the two cherubims which are upon the ark of the testimony, of all things which I will give thee in commandment unto the children of Israel. %%% Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri. 02EXO025.023 Thou shalt also make a table of shittim wood: two cubits shall be the length thereof, and a cubit the breadth thereof, and a cubit and a half the height thereof. %%% Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. 02EXO025.024 And thou shalt overlay it with pure gold, and make thereto a crown of gold round about. %%% Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO025.025 And thou shalt make unto it a border of an hand breadth round about, and thou shalt make a golden crown to the border thereof round about. %%% Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO025.026 And thou shalt make for it four rings of gold, and put the rings in the four corners that are on the four feet thereof. %%% Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana. 02EXO025.027 Over against the border shall the rings be for places of the staves to bear the table. %%% Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza. 02EXO025.028 And thou shalt make the staves of shittim wood, and overlay them with gold, that the table may be borne with them. %%% Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo. 02EXO025.029 And thou shalt make the dishes thereof, and spoons thereof, and covers thereof, and bowls thereof, to cover withal: of pure gold shalt thou make them. %%% Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola. 02EXO025.030 And thou shalt set upon the table shewbread before me alway. %%% Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo. 02EXO025.031 And thou shalt make a candlestick of pure gold: of beaten work shall the candlestick be made: his shaft, and his branches, his bowls, his knops, and his flowers, shall be of the same. %%% Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo: 02EXO025.032 And six branches shall come out of the sides of it; three branches of the candlestick out of the one side, and three branches of the candlestick out of the other side: %%% n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo olw'okubiri: 02EXO025.033 Three bowls made like unto almonds, with a knop and a flower in one branch; and three bowls made like almonds in the other branch, with a knop and a flower: so in the six branches that come out of the candlestick. %%% ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo; 02EXO025.034 And in the candlestick shall be four bowls made like unto almonds, with their knops and their flowers. %%% ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo: 02EXO025.035 And there shall be a knop under two branches of the same, and a knop under two branches of the same, and a knop under two branches of the same, according to the six branches that proceed out of the candlestick. %%% n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo. 02EXO025.036 Their knops and their branches shall be of the same: all it shall be one beaten work of pure gold. %%% Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu. 02EXO025.037 And thou shalt make the seven lamps thereof: and they shall light the lamps thereof, that they may give light over against it. %%% Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo. 02EXO025.038 And the tongs thereof, and the snuffdishes thereof, shall be of pure gold. %%% Ne makaasi waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi. 02EXO025.039 Of a talent of pure gold shall he make it, with all these vessels. %%% Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna. 02EXO025.040 And look that thou make them after their pattern, which was shewed thee in the mount. %%% Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi. 02EXO026.001 Moreover thou shalt make the tabernacle with ten curtains of fine twined linen, and blue, and purple, and scarlet: with cherubims of cunning work shalt thou make them. %%% Era olikola eweema n'emitanda kkumi; ne bafuta erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oligikola. 02EXO026.002 The length of one curtain shall be eight and twenty cubits, and the breadth of one curtain four cubits: and every one of the curtains shall have one measure. %%% Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu. 02EXO026.003 The five curtains shall be coupled together one to another; and other five curtains shall be coupled one to another. %%% Emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka; n'emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka. 02EXO026.004 And thou shalt make loops of blue upon the edge of the one curtain from the selvedge in the coupling; and likewise shalt thou make in the uttermost edge of another curtain, in the coupling of the second. %%% Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 02EXO026.005 Fifty loops shalt thou make in the one curtain, and fifty loops shalt thou make in the edge of the curtain that is in the coupling of the second; that the loops may take hold one of another. %%% Olikola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutaada ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango zirirabagana zokka na zokka. 02EXO026.006 And thou shalt make fifty taches of gold, and couple the curtains together with the taches: and it shall be one tabernacle. %%% Era olikola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ogatte emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso: eweema eribeera emu. 02EXO026.007 And thou shalt make curtains of goats' hair to be a covering upon the tabernacle: eleven curtains shalt thou make. %%% Era olikola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: oligikola emitanda kkumi na gumu. 02EXO026.008 The length of one curtain shall be thirty cubits, and the breadth of one curtain four cubits: and the eleven curtains shall be all of one measure. %%% Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu giribeera gya kigero kimu. 02EXO026.009 And thou shalt couple five curtains by themselves, and six curtains by themselves, and shalt double the sixth curtain in the forefront of the tabernacle. %%% Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema. 02EXO026.010 And thou shalt make fifty loops on the edge of the one curtain that is outmost in the coupling, and fifty loops in the edge of the curtain which coupleth the second. %%% Era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda gumu ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 02EXO026.011 And thou shalt make fifty taches of brass, and put the taches into the loops, and couple the tent together, that it may be one. %%% Era olikola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo, oliteekamu ebikwaso mu ŋŋango, oligatta eweema, ebeere emu. 02EXO026.012 And the remnant that remaineth of the curtains of the tent, the half curtain that remaineth, shall hang over the backside of the tabernacle. %%% N'ekitundu eky'emitanda gy'eweema ekifikkawo ekireebeeta, ekitundu kimu eky'omutanda ekifikkawo, kirireebeeta ku mabega g'eweema. 02EXO026.013 And a cubit on the one side, and a cubit on the other side of that which remaineth in the length of the curtains of the tent, it shall hang over the sides of the tabernacle on this side and on that side, to cover it. %%% N'omukono ogw'okuluuyi luno, n'omukono ogw'oku luuyi luli, ogufikkawo mu buwanvu bw'emitanda gy'eweema, gulireebeeta ku mbiriizi z'eweema eruuyi n'eruuyi, okugibikka. 02EXO026.014 And thou shalt make a covering for the tent of rams' skins dyed red, and a covering above of badgers' skins. %%% Era olikola ku weema n'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, ne kungulu ekyokugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge. 02EXO026.015 And thou shalt make boards for the tabernacle of shittim wood standing up. %%% Era olikola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, ziyimirire. 02EXO026.016 Ten cubits shall be the length of a board, and a cubit and a half shall be the breadth of one board. %%% Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanwu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo. 02EXO026.017 Two tenons shall there be in one board, set in order one against another: thus shalt thou make for all the boards of the tabernacle. %%% Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka: bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema. 02EXO026.018 And thou shalt make the boards for the tabernacle, twenty boards on the south side southward. %%% Era olikola embaawo ez'eweema, embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo. 02EXO026.019 And thou shalt make forty sockets of silver under the twenty boards; two sockets under one board for his two tenons, and two sockets under another board for his two tenons. %%% Era olikola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri: 02EXO026.020 And for the second side of the tabernacle on the north side there shall be twenty boards: %%% era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi lw'obukiika obwa kkono, embaawo amakumi abiri: 02EXO026.021 And their forty sockets of silver; two sockets under one board, and two sockets under another board. %%% n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu; n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 02EXO026.022 And for the sides of the tabernacle westward thou shalt make six boards. %%% N'ez'oluuyi lw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba, olikola embaawo mukaaga. 02EXO026.023 And two boards shalt thou make for the corners of the tabernacle in the two sides. %%% Era olikola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. 02EXO026.024 And they shall be coupled together beneath, and they shall be coupled together above the head of it unto one ring: thus shall it be for them both; they shall be for the two corners. %%% Ziriba bbiri bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo okutuuka empeta emu: bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'ensonda ebbiri. 02EXO026.025 And they shall be eight boards, and their sockets of silver, sixteen sockets; two sockets under one board, and two sockets under another board. %%% Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 02EXO026.026 And thou shalt make bars of shittim wood; five for the boards of the one side of the tabernacle, %%% Era olikola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi olumu olw'eweema, 02EXO026.027 And five bars for the boards of the other side of the tabernacle, and five bars for the boards of the side of the tabernacle, for the two sides westward. %%% n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'eweema, ku luuyi olw'emabega, olw'ebugwanjuba. 02EXO026.028 And the middle bar in the midst of the boards shall reach from end to end. %%% N'omuti ogwa wakati w'embaawo guyitemu eruuyi n'eruuyi. 02EXO026.029 And thou shalt overlay the boards with gold, and make their rings of gold for places for the bars: and thou shalt overlay the bars with gold. %%% N'embaawo olizibikkako zaabu, era olikola empeta zaazo za zaabu omwokuteekera emiti: n'emiti oligibikkako zaabu. 02EXO026.030 And thou shalt rear up the tabernacle according to the fashion thereof which was shewed thee in the mount. %%% Era olizimba eweema mu ngeri yaayo gye walagibwa ku lusozi. 02EXO026.031 And thou shalt make a vail of blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen of cunning work: with cherubims shall it be made: %%% Era olikola eggigi erya kaniki, n'ery'olugoye olw'effulungu, n'ery'olumyufu, n'erya bafuta ennungi erangiddwa: ne bakerubi omulimu ogw'abakozi ab'amagezi bwe lirikolebwa: 02EXO026.032 And thou shalt hang it upon four pillars of shittim wood overlaid with gold: their hooks shall be of gold, upon the four sockets of silver. %%% era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza. 02EXO026.033 And thou shalt hang up the vail under the taches, that thou mayest bring in thither within the vail the ark of the testimony: and the vail shall divide unto you between the holy place and the most holy. %%% Era oliwanika eggigi wansi w'ebikwaso, n'essanduuko ey'obujulirwa oligiyingiza eri munda w'eggigi: n'eggigi liryawulamu eri mmwe awatukuvu n'awasinga obutukuvu. 02EXO026.034 And thou shalt put the mercy seat upon the ark of the testimony in the most holy place. %%% Era oliteeka entebe ey'okusaasira ku ssanduuko ey'obujulirwa mu wasinga obutukuvu. 02EXO026.035 And thou shalt set the table without the vail, and the candlestick over against the table on the side of the tabernacle toward the south: and thou shalt put the table on the north side. %%% N'emmeeza oligiteeka ebweru w'eggigi, n'ekikondo mu maaso g'emmeeza ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo: n'emmeeza oligiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono. 02EXO026.036 And thou shalt make an hanging for the door of the tent, of blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen, wrought with needlework. %%% Era olikola oluggi olw'omulyango ogw'eweema, olwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza. 02EXO026.037 And thou shalt make for the hanging five pillars of shittim wood, and overlay them with gold, and their hooks shall be of gold: and thou shalt cast five sockets of brass for them. %%% Era olikola empagi ttaano ez'omuti gwa sita ez'oluggi, olizibikkako zaabu; ebikwaso byazo biribeera bya zaabu: era olizifumbira ebinnya bitaano eby'ekikomo. 02EXO027.001 And thou shalt make an altar of shittim wood, five cubits long, and five cubits broad; the altar shall be foursquare: and the height thereof shall be three cubits. %%% Era olikola ekyoto n'omuti gwa sita, emikono etaano obuwanvu, n'emikono etaano obugazi; ekyoto kiryenkanankana: n'obugulumivu bulibeera emikono esatu. 02EXO027.002 And thou shalt make the horns of it upon the four corners thereof: his horns shall be of the same: and thou shalt overlay it with brass. %%% Era olikola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya: amayembe gaakyo galibeera ga muti gumu nakyo; era olikibikkako ekikomo. 02EXO027.003 And thou shalt make his pans to receive his ashes, and his shovels, and his basons, and his fleshhooks, and his firepans: all the vessels thereof thou shalt make of brass. %%% Era olikola entamu zaakyo ez'okutwaliramu evvu lyakyo, n'ebijiiko byakyo, n'ebibya byakyo, n'eby'okukwasa ennyama byakyo, n'emmumbiro zaakyo: ebintu byakyo byonna olibikola bya bikomo. 02EXO027.004 And thou shalt make for it a grate of network of brass; and upon the net shalt thou make four brasen rings in the four corners thereof. %%% Era olikikolera ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa; ne ku kirukiddwa olikolako empeta nnya ez'ebikomo ku nsonda zaakyo ennya. 02EXO027.005 And thou shalt put it under the compass of the altar beneath, that the net may be even to the midst of the altar. %%% Era olikiteeka wansi w'omuziziko ogwetooloola ekyoto wansi, ekirukiddwa kituuke wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. 02EXO027.006 And thou shalt make staves for the altar, staves of shittim wood, and overlay them with brass. %%% Era olikola emisituliro egy'ekyoto, emisituliro gy'omuti gwa sita, oligibikkako ebikomo. 02EXO027.007 And the staves shall be put into the rings, and the staves shall be upon the two sides of the altar, to bear it. %%% N'emisituliro gyakyo giriyingizibwa mu mpeta, n'emisituliro giribeera ku mbiriizi z'ekyoto zombi, okukisitula. 02EXO027.008 Hollow with boards shalt thou make it: as it was shewed thee in the mount, so shall they make it. %%% Olikikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda: nga bwe walagirirwa ku lusozi, bwe batyo bwe balikikola. 02EXO027.009 And thou shalt make the court of the tabernacle: for the south side southward there shall be hangings for the court of fine twined linen of an hundred cubits long for one side: %%% Era olikola oluggya lw'eweema: eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo walibeera ebitimbibwa eby'oluggya ebya bafuta erangiddwa emikono kikumi obuwanvu oluuyi olumu: 02EXO027.010 And the twenty pillars thereof and their twenty sockets shall be of brass; the hooks of the pillars and their fillets shall be of silver. %%% n'empagi zaalwo ziribeera amakusni abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 02EXO027.011 And likewise for the north side in length there shall be hangings of an hundred cubits long, and his twenty pillars and their twenty sockets of brass; the hooks of the pillars and their fillets of silver. %%% Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi obuwanvu, n'empagi zaalwo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 02EXO027.012 And for the breadth of the court on the west side shall be hangings of fifty cubits: their pillars ten, and their sockets ten. %%% Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono amakumi ataano: empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi. 02EXO027.013 And the breadth of the court on the east side eastward shall be fifty cubits. %%% N'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebuvanjuba mu buvanjuba bulibeera emikono amakumi ataano. 02EXO027.014 The hangings of one side of the gate shall be fifteen cubits: their pillars three, and their sockets three. %%% Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 02EXO027.015 And on the other side shall be hangings fifteen cubits: their pillars three, and their sockets three. %%% Era eby'oluuyi olw'okubiri walibeera ebitimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 02EXO027.016 And for the gate of the court shall be an hanging of twenty cubits, of blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen, wrought with needlework: and their pillars shall be four, and their sockets four. %%% Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono amakumi abiri, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza: empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina. 02EXO027.017 All the pillars round about the court shall be filleted with silver; their hooks shall be of silver, and their sockets of brass. %%% Empagi zonna ez'oluggya ezeetooloode ziribeerako emiziziko egya ffeeza: ebikwaso byazo bya ffeeza, n'ebinnya byazo bya bikomo. 02EXO027.018 The length of the court shall be an hundred cubits, and the breadth fifty every where, and the height five cubits of fine twined linen, and their sockets of brass. %%% Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi, n'obugazi amakumi ataano wonna wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo. 02EXO027.019 All the vessels of the tabernacle in all the service thereof, and all the pins thereof, and all the pins of the court, shall be of brass. %%% Ebintu byonna eby'omu weema mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo. 02EXO027.020 And thou shalt command the children of Israel, that they bring thee pure oil olive beaten for the light, to cause the lamp to burn always. %%% Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeeyituuni agakubibwa ag'ettabaaza, okwasa ettabaaza bulijo. 02EXO027.021 In the tabernacle of the congregation without the vail, which is before the testimony, Aaron and his sons shall order it from evening to morning before the LORD: it shall be a statute for ever unto their generations on the behalf of the children of Israel. %%% Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama: linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna ku lw'abaana ba Isiraeri. 02EXO028.001 And take thou unto thee Aaron thy brother, and his sons with him, from among the children of Israel, that he may minister unto me in the priest's office, even Aaron, Nadab and Abihu, Eleazar and Ithamar, Aaron's sons. %%% Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni. 02EXO028.002 And thou shalt make holy garments for Aaron thy brother for glory and for beauty. %%% Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuvu olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. 02EXO028.003 And thou shalt speak unto all that are wise hearted, whom I have filled with the spirit of wisdom, that they may make Aaron's garments to consecrate him, that he may minister unto me in the priest's office. %%% Era olibagamba bonna abalina omutima ogw'amagezi, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni okumutukuza, ampeereze mu bwa kabona. 02EXO028.004 And these are the garments which they shall make; a breastplate, and an ephod, and a robe, and a broidered coat, a mitre, and a girdle: and they shall make holy garments for Aaron thy brother, and his sons, that he may minister unto me in the priest's office. %%% Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona. 02EXO028.005 And they shall take gold, and blue, and purple, and scarlet, and fine linen. %%% Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, nebafuta. 02EXO028.006 And they shall make the ephod of gold, of blue, and of purple, of scarlet, and fine twined linen, with cunning work. %%% Era balikola ekkanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi. 02EXO028.007 It shall have the two shoulderpieces thereof joined at the two edges thereof; and so it shall be joined together. %%% Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu. 02EXO028.008 And the curious girdle of the ephod, which is upon it, shall be of the same, according to the work thereof; even of gold, of blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen. %%% N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa. 02EXO028.009 And thou shalt take two onyx stones, and grave on them the names of the children of Israel: %%% Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri: 02EXO028.010 Six of their names on one stone, and the other six names of the rest on the other stone, according to their birth. %%% amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja ery'okubiri, nga bwe bazaalibwa. 02EXO028.011 With the work of an engraver in stone, like the engravings of a signet, shalt thou engrave the two stones with the names of the children of Israel: thou shalt make them to be set in ouches of gold. %%% Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri: oligeetoolooza amapeesa aga zaabu. 02EXO028.012 And thou shalt put the two stones upon the shoulders of the ephod for stones of memorial unto the children of Israel: and Aaron shall bear their names before the LORD upon his two shoulders for a memorial. %%% Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo. 02EXO028.013 And thou shalt make ouches of gold; %%% Era olikola amapeesa aga zaabu: 02EXO028.014 And two chains of pure gold at the ends; of wreathen work shalt thou make them, and fasten the wreathen chains to the ouches. %%% n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa: era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa. 02EXO028.015 And thou shalt make the breastplate of judgment with cunning work; after the work of the ephod thou shalt make it; of gold, of blue, and of purple, and of scarlet, and of fine twined linen, shalt thou make it. %%% Era olikola eky'omu kifuba eky'omusango, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi: ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola. 02EXO028.016 Foursquare it shall be being doubled; a span shall be the length thereof, and a span shall be the breadth thereof. %%% Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo. 02EXO028.017 And thou shalt set in it settings of stones, even four rows of stones: the first row shall be a sardius, a topaz, and a carbuncle: this shall be the first row. %%% Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olw'olubereberye; 02EXO028.018 And the second row shall be an emerald, a sapphire, and a diamond. %%% n'olunnyiriri olw'okubiri lya nawandagala, safiro, ne alimasi; 02EXO028.019 And the third row a ligure, an agate, and an amethyst. %%% n'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, ne sebu, ne amesusito; 02EXO028.020 And the fourth row a beryl, and an onyx, and a jasper: they shall be set in gold in their inclosings. %%% n'olunnyiriri olw'okuna berulo, ne onuku, ne yasipero: galyetooloozebwa zaabu we gaatonebwa. 02EXO028.021 And the stones shall be with the names of the children of Israel, twelve, according to their names, like the engravings of a signet; every one with his name shall they be according to the twelve tribes. %%% N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri. 02EXO028.022 And thou shalt make upon the breastplate chains at the ends of wreathen work of pure gold. %%% Era olikola ku ky'omu kifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. 02EXO028.023 And thou shalt make upon the breastplate two rings of gold, and shalt put the two rings on the two ends of the breastplate. %%% Era olikola ku ky'omu kifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka empeeta ebbiri ku nsonda ebbiri ez'eky'omu kifuba. 02EXO028.024 And thou shalt put the two wreathen chains of gold in the two rings which are on the ends of the breastplate. %%% Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'eky'omu kifuba. 02EXO028.025 And the other two ends of the two wreathen chains thou shalt fasten in the two ouches, and put them on the shoulderpieces of the ephod before it. %%% N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. 02EXO028.026 And thou shalt make two rings of gold, and thou shalt put them upon the two ends of the breastplate in the border thereof, which is in the side of the ephod inward. %%% Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. 02EXO028.027 And two other rings of gold thou shalt make, and shalt put them on the two sides of the ephod underneath, toward the forepart thereof, over against the other coupling thereof, above the curious girdle of the ephod. %%% Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi. 02EXO028.028 And they shall bind the breastplate by the rings thereof unto the rings of the ephod with a lace of blue, that it may be above the curious girdle of the ephod, and that the breastplate be not loosed from the ephod. %%% Era balisiba eky'omu kifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu. 02EXO028.029 And Aaron shall bear the names of the children of Israel in the breastplate of judgment upon his heart, when he goeth in unto the holy place, for a memorial before the LORD continually. %%% Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu ky'omu kifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna. 02EXO028.030 And thou shalt put in the breastplate of judgment the Urim and the Thummim; and they shall be upon Aaron's heart, when he goeth in before the LORD: and Aaron shall bear the judgment of the children of Israel upon his heart before the LORD continually. %%% Era oliteeka mu ky'omu kifuba eky'omusango Ulimu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna. 02EXO028.031 And thou shalt make the robe of the ephod all of blue. %%% Era olikola omunagiro ogw'omu kkanzu gwonna gwa kaniki. 02EXO028.032 And there shall be an hole in the top of it, in the midst thereof: it shall have a binding of woven work round about the hole of it, as it were the hole of an habergeon, that it be not rent. %%% Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe: gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituii eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa. 02EXO028.033 And beneath upon the hem of it thou shalt make pomegranates of blue, and of purple, and of scarlet, round about the hem thereof; and bells of gold between them round about: %%% Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola: 02EXO028.034 A golden bell and a pomegranate, a golden bell and a pomegranate, upon the hem of the robe round about. %%% endege eya zaabu n'ekkomamawanga, endege eya zaabu n'ekkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola. 02EXO028.035 And it shall be upon Aaron to minister: and his sound shall be heard when he goeth in unto the holy place before the LORD, and when he cometh out, that he die not. %%% Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa. 02EXO028.036 And thou shalt make a plate of pure gold, and grave upon it, like the engravings of a signet, HOLINESS TO THE LORD. %%% Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. 02EXO028.037 And thou shalt put it on a blue lace, that it may be upon the mitre; upon the forefront of the mitre it shall be. %%% N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga. 02EXO028.038 And it shall be upon Aaron's forehead, that Aaron may bear the iniquity of the holy things, which the children of Israel shall hallow in all their holy gifts; and it shall be always upon his forehead, that they may be accepted before the LORD. %%% Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama. 02EXO028.039 And thou shalt embroider the coat of fine linen, and thou shalt make the mitre of fine linen, and thou shalt make the girdle of needlework. %%% Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza. 02EXO028.040 And for Aaron's sons thou shalt make coats, and thou shalt make for them girdles, and bonnets shalt thou make for them, for glory and for beauty. %%% Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. 02EXO028.041 And thou shalt put them upon Aaron thy brother, and his sons with him; and shalt anoint them, and consecrate them, and sanctify them, that they may minister unto me in the priest's office. %%% N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona. 02EXO028.042 And thou shalt make them linen breeches to cover their nakedness; from the loins even unto the thighs they shall reach: %%% Era olibakolera seruwale za lugoye okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi: 02EXO028.043 And they shall be upon Aaron, and upon his sons, when they come in unto the tabernacle of the congregation, or when they come near unto the altar to minister in the holy place; that they bear not iniquity, and die: it shall be a statute for ever unto him and his seed after him. %%% era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira. 02EXO029.001 And this is the thing that thou shalt do unto them to hallow them, to minister unto me in the priest's office: Take one young bullock, and two rams without blemish, %%% Era bw'olibakola bw'otyo okubatukuza, bampeereze mu bwakabona: otwale ente ennume ento n'endiga ennume bbiri ezitaliiko bulema 02EXO029.002 And unleavened bread, and cakes unleavened tempered with oil, and wafers unleavened anointed with oil: of wheaten flour shalt thou make them. %%% n'emigaati egitazimbulukuswa, n'obugaati obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta: oligikola n'obutta obulungi obw'eŋŋaano. 02EXO029.003 And thou shalt put them into one basket, and bring them in the basket, with the bullock and the two rams. %%% Era oligiteeka mu kabbo kamu, oligireetera mu kabbo, awamu n'ente n'endiga ebbiri. 02EXO029.004 And Aaron and his sons thou shalt bring unto the door of the tabernacle of the congregation, and shalt wash them with water. %%% Ne Alooni n'abaana be olibaleeta ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, olibanaaza n'amazzi. 02EXO029.005 And thou shalt take the garments, and put upon Aaron the coat, and the robe of the ephod, and the ephod, and the breastplate, and gird him with the curious girdle of the ephod: %%% Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'eky'omu kifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi: 02EXO029.006 And thou shalt put the mitre upon his head, and put the holy crown upon the mitre. %%% era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba. 02EXO029.007 Then shalt thou take the anointing oil, and pour it upon his head, and anoint him. %%% N'olyoka otwala amafuta ag'okufukibwako, n'ogafuka ku mutwe gwe, n'omufukira amafuta. 02EXO029.008 And thou shalt bring his sons, and put coats upon them. %%% Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo. 02EXO029.009 And thou shalt gird them with girdles, Aaron and his sons, and put the bonnets on them: and the priest's office shall be theirs for a perpetual statute: and thou shalt consecrate Aaron and his sons. %%% Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira: era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo: era olijjuza emikono gya Alooni n'abaana be. 02EXO029.010 And thou shalt cause a bullock to be brought before the tabernacle of the congregation: and Aaron and his sons shall put their hands upon the head of the bullock. %%% Era olireeta ente mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'ente. 02EXO029.011 And thou shalt kill the bullock before the LORD, by the door of the tabernacle of the congregation. %%% Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 02EXO029.012 And thou shalt take of the blood of the bullock, and put it upon the horns of the altar with thy finger, and pour all the blood beside the bottom of the altar. %%% N'otwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'ekyoto n'olunwe lwo; n'oyiwa omusaayi gwonna mu ntobo y'ekyoto. 02EXO029.013 And thou shalt take all the fat that covereth the inwards, and the caul that is above the liver, and the two kidneys, and the fat that is upon them, and burn them upon the altar. %%% Era olitwala amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku kyoto. 02EXO029.014 But the flesh of the bullock, and his skin, and his dung, shalt thou burn with fire without the camp: it is a sin offering. %%% Naye ennyama y'ente, n'eddiba lyayo, n'obusa bwayo, n'obyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira: kye kiweebwayo olw'ebibi. 02EXO029.015 Thou shalt also take one ram; and Aaron and his sons shall put their hands upon the head of the ram. %%% Era olitwala endiga emu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 02EXO029.016 And thou shalt slay the ram, and thou shalt take his blood, and sprinkle it round about upon the altar. %%% Era olisala endiga, n'otwala omusaayi gwayo, n'ogumansira ku kyoto okukyetooloola. 02EXO029.017 And thou shalt cut the ram in pieces, and wash the inwards of him, and his legs, and put them unto his pieces, and unto his head. %%% Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo. 02EXO029.018 And thou shalt burn the whole ram upon the altar: it is a burnt offering unto the LORD: it is a sweet savour, an offering made by fire unto the LORD. %%% Era olyokera ku kyoto endiga ennamba: kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: lye vvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 02EXO029.019 And thou shalt take the other ram; and Aaron and his sons shall put their hands upon the head of the ram. %%% Era olitwala endiga ey'okubiri; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 02EXO029.020 Then shalt thou kill the ram, and take of his blood, and put it upon the tip of the right ear of Aaron, and upon the tip of the right ear of his sons, and upon the thumb of their right hand, and upon the great toe of their right foot, and sprinkle the blood upon the altar round about. %%% N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bisajja eby'oku bigere byabwe ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola. 02EXO029.021 And thou shalt take of the blood that is upon the altar, and of the anointing oil, and sprinkle it upon Aaron, and upon his garments, and upon his sons, and upon the garments of his sons with him: and he shall be hallowed, and his garments, and his sons, and his sons' garments with him. %%% Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye : naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be wamu naye. 02EXO029.022 Also thou shalt take of the ram the fat and the rump, and the fat that covereth the inwards, and the caul above the liver, and the two kidneys, and the fat that is upon them, and the right shoulder; for it is a ram of consecration: %%% Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye ndiga ey'okutukuza: 02EXO029.023 And one loaf of bread, and one cake of oiled bread, and one wafer out of the basket of the unleavened bread that is before the LORD: %%% n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukuswa akali mu maaso ga Mukama: 02EXO029.024 And thou shalt put all in the hands of Aaron, and in the hands of his sons; and shalt wave them for a wave offering before the LORD. %%% era olibissa byonna mu ngalo za Alooni, ne mu ngalo z'abaana be; n'obiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 02EXO029.025 And thou shalt receive them of their hands, and burn them upon the altar for a burnt offering, for a sweet savour before the LORD: it is an offering made by fire unto the LORD. %%% Era olibiggya mu ngalo zaabwe, n'obyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 02EXO029.026 And thou shalt take the breast of the ram of Aaron's consecration, and wave it for a wave offering before the LORD: and it shall be thy part. %%% Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama : era ekyo kinaabanga mugabo gwo. 02EXO029.027 And thou shalt sanctify the breast of the wave offering, and the shoulder of the heave offering, which is waved, and which is heaved up, of the ram of the consecration, even of that which is for Aaron, and of that which is for his sons: %%% Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be: 02EXO029.028 And it shall be Aaron's and his sons' by a statute for ever from the children of Israel: for it is an heave offering: and it shall be an heave offering from the children of Israel of the sacrifice of their peace offerings, even their heave offering unto the LORD. %%% era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna: kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa: era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama. 02EXO029.029 And the holy garments of Aaron shall be his sons' after him, to be anointed therein, and to be consecrated in them. %%% N'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni binaabeeranga bya baana be abalimuddirira, okubifukirwangamu amafuta, n'okubitukulizibwangamu. 02EXO029.030 And that son that is priest in his stead shall put them on seven days, when he cometh into the tabernacle of the congregation to minister in the holy place. %%% Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu. 02EXO029.031 And thou shalt take the ram of the consecration, and seethe his flesh in the holy place. %%% Era olitwala endiga ey'okutukuza, n'ofumbira ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu. 02EXO029.032 And Aaron and his sons shall eat the flesh of the ram, and the bread that is in the basket, by the door of the tabernacle of the congregation. %%% Ne Alooni n'abaana be balirya ennyama y'endiga n'emigaati egiri mu kabbo, mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 02EXO029.033 And they shall eat those things wherewith the atonement was made, to consecrate and to sanctify them: but a stranger shall not eat thereof, because they are holy. %%% Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa: naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu. 02EXO029.034 And if ought of the flesh of the consecrations, or of the bread, remain unto the morning, then thou shalt burn the remainder with fire: it shall not be eaten, because it is holy. %% Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, n'obyokya ebirisigalawo n'omuliro: tebiririibwa, kubanga bitukuvu. 02EXO029.035 And thus shalt thou do unto Aaron, and to his sons, according to all things which I have commanded thee: seven days shalt thou consecrate them. %%% Bw'olikola bw'otyo Alooni n'abaana be, nga byonna bye nkulagidde: olibatukuliza ennaku musanvu. 02EXO029.036 And thou shalt offer every day a bullock for a sin offering for atonement: and thou shalt cleanse the altar, when thou hast made an atonement for it, and thou shalt anoint it, to sanctify it. %%% Era onoowangayo buli lunaku ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi olw'okutangirira: era onoolongoosanga ekyoto, bw'onookikoleranga eky'okutangirira; era onookifukangako amafuta, okukitukuza. 02EXO029.037 Seven days thou shalt make an atonement for the altar, and sanctify it; and it shall be an altar most holy: whatsoever toucheth the altar shall be holy. %%% Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga: era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu. 02EXO029.038 Now this is that which thou shalt offer upon the altar; two lambs of the first year day by day continually. %%% Kale by'onoowangayo ku kyoto bye bino; abaana b'endiga babiri abaakamala omwaka ogumu buli lunaku obutayosa. 02EXO029.039 The one lamb thou shalt offer in the morning; and the other lamb thou shalt offer at even: %%% Enkya onoowangayo omwana gw'endiga ogumu; n'akawungeezi onoowangayo omwana gw'endiga ogw'okubiri: 02EXO029.040 And with the one lamb a tenth deal of flour mingled with the fourth part of an hin of beaten oil; and the fourth part of an hin of wine for a drink offering. %%% era awamu n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya yini eky'amafuta amakube; n'ekitundu eky'okuna ekya yini eky'envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa. 02EXO029.041 And the other lamb thou shalt offer at even, and shalt do thereto according to the meat offering of the morning, and according to the drink offering thereof, for a sweet savour, an offering made by fire unto the LORD. %%% N'omwana gw'endiga omulala onoomuwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 02EXO029.042 This shall be a continual burnt offering throughout your generations at the door of the tabernacle of the congregation before the LORD: where I will meet you, to speak there unto thee. %%% Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama: awo we nnaasisinkaniranga nammwe, okwogerera awo naawe. 02EXO029.043 And there I will meet with the children of Israel, and the tabernacle shall be sanctified by my glory. %%% Era awo we nnaasisinkaniranga n'abaana ba Isiraeri; n'eweema eritukuzibwa n'ekitiibwa kyange. 02EXO029.044 And I will sanctify the tabernacle of the congregation, and the altar: I will sanctify also both Aaron and his sons, to minister to me in the priest's office. %%% Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto: ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona. 02EXO029.045 And I will dwell among the children of Israel, and will be their God. %%% Era naatuulanga mu baana ba Isiraeri, era naabeeranga Katonda waabwe. 02EXO029.046 And they shall know that I am the LORD their God, that brought them forth out of the land of Egypt, that I may dwell among them: I am the LORD their God. %%% Nabo banaategeeranga nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke ntuule mu bo: nze Mukama Katonda waabwe. 02EXO030.001 And thou shalt make an altar to burn incense upon: of shittim wood shalt thou make it. %%% Era olikola ekyoto eky’okwoterezangako obubaane: olikikola n’omuti ogwa sita. 02EXO030.002 A cubit shall be the length thereof, and a cubit the breadth thereof; foursquare shall it be: and two cubits shall be the height thereof: the horns thereof shall be of the same. %%% Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri: amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo. 02EXO030.003 And thou shalt overlay it with pure gold, the top thereof, and the sides thereof round about, and the horns thereof; and thou shalt make unto it a crown of gold round about. %%% Era olikibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo; era olikikolako engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO030.004 And two golden rings shalt thou make to it under the crown of it, by the two corners thereof, upon the two sides of it shalt thou make it; and they shall be for places for the staves to bear it withal. %%% Era olikikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi kw'olizikolera; era ziribeera bifo bya misituliro okukisitulirangako. 02EXO030.005 And thou shalt make the staves of shittim wood, and overlay them with gold. %%% Era olikola emisituliro n'omuti ogwa sita, n'ogibikkako zaabu. 02EXO030.006 And thou shalt put it before the vail that is by the ark of the testimony, before the mercy seat that is over the testimony, where I will meet with thee. %%% Era olikiteeka mu maaso g'eggigi eriri okumpi n'essanduuko ey'obujulirwa, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, kwe nnaasisinkaniranga naawe. 02EXO030.007 And Aaron shall burn thereon sweet incense every morning: when he dresseth the lamps, he shall burn incense upon it. %%% Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa: buli nkya, bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga. 02EXO030.008 And when Aaron lighteth the lamps at even, he shall burn incense upon it, a perpetual incense before the LORD throughout your generations. %%% Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 02EXO030.009 Ye shall offer no strange incense thereon, nor burnt sacrifice, nor meat offering; neither shall ye pour drink offering thereon. %%% Temukyoterezangako obubaane obulala, newakubadde ekiweebwayo eky'okwokya, newakubadde ekiweebwayo eky'obutta: so temukifukirangako ekiweebwayo eky'okunywa. 02EXO030.010 And Aaron shall make an atonement upon the horns of it once in a year with the blood of the sin offering of atonements: once in the year shall he make atonement upon it throughout your generations: it is most holy unto the LORD. %%% Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka: n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna: kye kitukuvu ennyo eri Mukama. 02EXO030.011 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 02EXO030.012 When thou takest the sum of the children of Israel after their number, then shall they give every man a ransom for his soul unto the LORD, when thou numberest them; that there be no plague among them, when thou numberest them. %%% Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, bw'onoobabalanga; kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga. 02EXO030.013 This they shall give, every one that passeth among them that are numbered, half a shekel after the shekel of the sanctuary: (a shekel is twenty gerahs:) an half shekel shall be the offering of the LORD. %%% Kino kye banaawanga, buli anaayitanga mu abo ababaliddwa anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: (sekeri emu yenkana ne gera amakumi abiri :) ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama. 02EXO030.014 Every one that passeth among them that are numbered, from twenty years old and above, shall give an offering unto the LORD. %%% Buli anaayitanga mu abo ababaliddwa, bonna abaakamala emyaka amakumi abiri oba kusingawo anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama. 02EXO030.015 The rich shall not give more, and the poor shall not give less than half a shekel, when they give an offering unto the LORD, to make an atonement for your souls. %%% Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe. 02EXO030.016 And thou shalt take the atonement money of the children of Israel, and shalt appoint it for the service of the tabernacle of the congregation; that it may be a memorial unto the children of Israel before the LORD, to make an atonement for your souls. %%% Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe. 02EXO030.017 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 02EXO030.018 Thou shalt also make a laver of brass, and his foot also of brass, to wash withal: and thou shalt put it between the tabernacle of the congregation and the altar, and thou shalt put water therein. %%% Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu: n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi. 02EXO030.019 For Aaron and his sons shall wash their hands and their feet thereat: %%% Ne Alooni n'abaana be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe: 02EXO030.020 When they go into the tabernacle of the congregation, they shall wash with water, that they die not; or when they come near to the altar to minister, to burn offering made by fire unto the LORD: %%% bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: 02EXO030.021 So they shall wash their hands and their feet, that they die not: and it shall be a statute for ever to them, even to him and to his seed throughout their generations. %%% banaanaabanga bwe baryo engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa: era kinaabeeranga kiragiro ennaku zonna eri bo, eri ye n'eri ezzadde lye mu mirembe gyabwe gyonna. 02EXO030.022 Moreover the LORD spake unto Moses, saying, %%% Nate Mukama n'agamba Musa nti 02EXO030.023 Take thou also unto thee principal spices, of pure myrrh five hundred shekels, and of sweet cinnamon half so much, even two hundred and fifty shekels, and of sweet calamus two hundred and fifty shekels, %%% Era weetwalire ku by'akaloosa ebimanyibwa, muulo ekulukuta sekeri bitaano, ne kinamomo sekeri bibiri mu ataano, kye kitundu ky'omuwendo gwa muulo, ne kalamo empoomerevu sekeri bibiri mu ataano, 02EXO030.024 And of cassia five hundred shekels, after the shekel of the sanctuary, and of oil olive an hin: %%% ne kasia sekeri bitaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, n'amafuta ag'omuzeyituuni emu: 02EXO030.025 And thou shalt make it an oil of holy ointment, an ointment compound after the art of the apothecary: it shall be an holy anointing oil. %%% era olibikoza amafuta amatukuvu ag'okufukibwangako, omugavu ogutabuddwa n'amagezi ag'omukozi w'omugavu: galiba mafuta amatukuvu ag'okufukibwangako. 02EXO030.026 And thou shalt anoint the tabernacle of the congregation therewith, and the ark of the testimony, %%% Era oligafuka ku weema ey'okusisinkanirangamu, ne ku ssanduuko ey'obujulirwa, 02EXO030.027 And the table and all his vessels, and the candlestick and his vessels, and the altar of incense, %%% ne ku mmeeza ne ku bintu byayo byonna, n'ekikondo ne ku bintu byakyo, ne ku kyoto eky'okwoterezangako, 02EXO030.028 And the altar of burnt offering with all his vessels, and the laver and his foot. %%% ne ku kyoto eky'okwokerangako ne ku bintu byakyo byonna, ne ku kinaabirwamu ne ku ntobo yaakyo. 02EXO030.029 And thou shalt sanctify them, that they may be most holy: whatsoever toucheth them shall be holy. %%% Era olibitukuza okubeera ebitukuvu ennyo: buli ekinaabikomangako kiriba kitukuvu. 02EXO030.030 And thou shalt anoint Aaron and his sons, and consecrate them, that they may minister unto me in the priest's office. %%% Era Alooni n'abaana be olibafukako amafuta, n'obatukuza okumpeereza mu bwakabona. 02EXO030.031 And thou shalt speak unto the children of Israel, saying, This shall be an holy anointing oil unto me throughout your generations. %%% Era oligamba abaana ba Isiraeri nti Gano ganaabeeranga mafuta matukuvu ag'okufukibwangako eri nze mu mirembe gyammwe gyonna. 02EXO030.032 Upon man's flesh shall it not be poured, neither shall ye make any other like it, after the composition of it: it is holy, and it shall be holy unto you. %%% Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa: ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli. 02EXO030.033 Whosoever compoundeth any like it, or whosoever putteth any of it upon a stranger, shall even be cut off from his people. %%% Buli alitabula agafaanana nago, na buli aligafukako ku munnaggwanga, alizikirizibwa okuva mu bantu be. 02EXO030.034 And the LORD said unto Moses, Take unto thee sweet spices, stacte, and onycha, and galbanum; these sweet spices with pure frankincense: of each shall there be a like weight: %%% Mukama n'agamba Musa nti Weetwalire ebyakawoowo ebiwoomerevu, sitakite, ne onuka, ne galabano; ebyakaloosa ebiwoomerevu n'omugavu omulongoofu: byonna byenkane obuzito; 02EXO030.035 And thou shalt make it a perfume, a confection after the art of the apothecary, tempered together, pure and holy: %%% era olibikoza eky'okwoteza, akaloosa akakolebwa n'amagezi ag'omukozi w'akaloosa, akatabuddwamu omunnyo, akalongoofu, akatukuvu: 02EXO030.036 And thou shalt beat some of it very small, and put of it before the testimony in the tabernacle of the congregation, where I will meet with thee: it shall be unto you most holy. %%% era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe: kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli. 02EXO030.037 And as for the perfume which thou shalt make, ye shall not make to yourselves according to the composition thereof: it shall be unto thee holy for the LORD. %%% N'eky'okwoteza ky'olikola temukyekoleranga mmwe mwekka nga bwe kitabulwa: kinaabeeranga kitukuvu gy'oli eri Mukama. 02EXO030.038 Whosoever shall make like unto that, to smell thereto, shall even be cut off from his people. %%% Buli anaakolanga agafaanana nago, okuwunyako, alizikirizibwa okuva mu bantu be. 02EXO031.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 02EXO031.002 See, I have called by name Bezaleel the son of Uri, the son of Hur, of the tribe of Judah: %%% Laba, mpise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'omu kika kya Yuda: 02EXO031.003 And I have filled him with the spirit of God, in wisdom, and in understanding, and in knowledge, and in all manner of workmanship, %%% era mmujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola, 02EXO031.004 To devise cunning works, to work in gold, and in silver, and in brass, %%% okulowooza emirimu egy'amagezi, okukola ne zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo, 02EXO031.005 And in cutting of stones, to set them, and in carving of timber, to work in all manner of workmanship. %%% ne mu kusala amayinja ag'okussaamu, ne mu kwola emiti, okukola mu buli ngeri ya kukola. 02EXO031.006 And I, behold, I have given with him Aholiab, the son of Ahisamach, of the tribe of Dan: and in the hearts of all that are wise hearted I have put wisdom, that they may make all that I have commanded thee; %%% Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne mu mitima gyabwe bonna abalina emitima egy'amagezi ngitaddemu amagezi bakole byonna bye nkulagidde: 02EXO031.007 The tabernacle of the congregation, and the ark of the testimony, and the mercy seat that is thereupon, and all the furniture of the tabernacle, %%% eweema ey'okusisinkanirangamu, ne ssanduuko ey'obujulirwa, n'entebe ey'okusaasira egiriko, n'ebintu byonna eby'omu weema; 02EXO031.008 And the table and his furniture, and the pure candlestick with all his furniture, and the altar of incense, %%% n'emmeeza n'ebintu byayo, n'ekikondo ekirungi n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoto eky'okwoterezangako; 02EXO031.009 And the altar of burnt offering with all his furniture, and the laver and his foot, %%% n'ekyoto eky'okwokerangako n'ebintu byakyo byonna, n'ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 02EXO031.010 And the cloths of service, and the holy garments for Aaron the priest, and the garments of his sons, to minister in the priest's office, %%% n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona; 02EXO031.011 And the anointing oil, and sweet incense for the holy place: according to all that I have commanded thee shall they do. %%% n'amafuta ag'okufukibwangako, n'eky'okwoteza eky'eby'akaloosa ebiwoomerevu ekya watukuvu: nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo. 02EXO031.012 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 02EXO031.013 Speak thou also unto the children of Israel, saying, Verily my sabbaths ye shall keep: for it is a sign between me and you throughout your generations; that ye may know that I am the LORD that doth sanctify you. %%% Era buulira abaana ba Isiraeri nti Mazima mukwatanga ssabbiiti zange: kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna; mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza. 02EXO031.014 Ye shall keep the sabbath therefore; for it is holy unto you: every one that defileth it shall surely be put to death: for whosoever doeth any work therein, that soul shall be cut off from among his people. %%% Kyemunaavanga mukwata ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli: buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa: kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 02EXO031.015 Six days may work be done; but in the seventh is the sabbath of rest, holy to the LORD: whosoever doeth any work in the sabbath day, he shall surely be put to death. %%% Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama: buli anaakoleranga emirimu gyonna ku ssabbiiti, talemanga kuttibwa. 02EXO031.016 Wherefore the children of Israel shall keep the sabbath, to observe the sabbath throughout their generations, for a perpetual covenant. %%% Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo. 02EXO031.017 It is a sign between me and the children of Israel for ever: for in six days the LORD made heaven and earth, and on the seventh day he rested, and was refreshed. %%% Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera. 02EXO031.018 And he gave unto Moses, when he had made an end of communing with him upon mount Sinai, two tables of testimony, tables of stone, written with the finger of God. %%% Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda. 02EXO032.001 And when the people saw that Moses delayed to come down out of the mount, the people gathered themselves together unto Aaron, and said unto him, Up, make us gods, which shall go before us; for as for this Moses, the man that brought us up out of the land of Egypt, we wot not what is become of him. %%% Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti Golokoka, otukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. 02EXO032.002 And Aaron said unto them, Break off the golden earrings, which are in the ears of your wives, of your sons, and of your daughters, and bring them unto me. %%% Alooni n'abagamba nti Mumenye ku mpeta eza zaabu, eziri mu matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere. 02EXO032.003 And all the people brake off the golden earrings which were in their ears, and brought them unto Aaron. %%% Abantu bonna ne bamenya ku mpeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni. 02EXO032.004 And he received them at their hand, and fashioned it with a graving tool, after he had made it a molten calf: and they said, These be thy gods, O Israel, which brought thee up out of the land of Egypt. %%% N'agitoola mu ngalo zaabwe, n'agiwumba n'ekyuma ekisala, n'agifuula ennyana ensaanuuse: ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri 02EXO032.005 And when Aaron saw it, he built an altar before it; and Aaron made proclamation, and said, To morrow is a feast to the LORD. %%% Alooni bwe yalaba, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti Enkya wanaabeera embaga eri Mukama. 02EXO032.006 And they rose up early on the morrow, and offered burnt offerings, and brought peace offerings; and the people sat down to eat and to drink, and rose up to play. %%% Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya. 02EXO032.007 And the LORD said unto Moses, Go, get thee down; for thy people, which thou broughtest out of the land of Egypt, have corrupted themselves: %%% Mukama n'agamba Musa nti Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza: 02EXO032.008 They have turned aside quickly out of the way which I commanded them: they have made them a molten calf, and have worshipped it, and have sacrificed thereunto, and said, These be thy gods, O Israel, which have brought thee up out of the land of Egypt. %%% bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira: beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaaku ggya mu nsi y'e Misiri: 02EXO032.009 And the LORD said unto Moses, I have seen this people, and, behold, it is a stiffnecked people: %%% Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano era, laba, be bantu abalina ensingo enkakanyavu: 02EXO032.010 Now therefore let me alone, that my wrath may wax hot against them, and that I may consume them: and I will make of thee a great nation. %%% kale kaakano ndeka, obusungu bwange bwake nnyo ku bo, era mbazikirize: era ndikufuula ggwe eggwanga eddene. 02EXO032.011 And Moses besought the LORD his God, and said, LORD, why doth thy wrath wax hot against thy people, which thou hast brought forth out of the land of Egypt with great power, and with a mighty hand? %%% Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti Mukama, kiki ekyasizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogw'obuyinza? 02EXO032.012 Wherefore should the Egyptians speak, and say, For mischief did he bring them out, to slay them in the mountains, and to consume them from the face of the earth? Turn from thy fierce wrath, and repent of this evil against thy people. %%% Lwaki okwogeza Abamisiri nti Yabaggiramu obubi, okubattira ku nsozi, n'okubazikiriza okuva ku maaso g'ensi? Oleke obusungu bwo obukambwe, ojjulukuke oleke obubi obwo eri abantu bo. 02EXO032.013 Remember Abraham, Isaac, and Israel, thy servants, to whom thou swarest by thine own self, and saidst unto them, I will multiply your seed as the stars of heaven, and all this land that I have spoken of will I give unto your seed, and they shall inherit it for ever. %%% Ojjukire Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayiririra wekka n'obagamba nti Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna. 02EXO032.014 And the LORD repented of the evil which he thought to do unto his people. %%% Mukama n'ajjulukuka n'aleka obubi bw'abadde ayogedde okubakola abantu be. 02EXO032.015 And Moses turned, and went down from the mount, and the two tables of the testimony were in his hand: the tables were written on both their sides; on the one side and on the other were they written. %%% Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi. 02EXO032.016 And the tables were the work of God, and the writing was the writing of God, graven upon the tables. %%% N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande. 02EXO032.017 And when Joshua heard the noise of the people as they shouted, he said unto Moses, There is a noise of war in the camp. %%% Yoswa bwe yawulira eddoboozi ly'abantu nga boogerera waggulu, n'agamba Musa nti Waliwo eddoboozi ery'okulwana mu lusiisira. 02EXO032.018 And he said, It is not the voice of them that shout for mastery, neither is it the voice of them that cry for being overcome: but the noise of them that sing do I hear. %%% N'ayogera nti Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa: naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira. 02EXO032.019 And it came to pass, as soon as he came nigh unto the camp, that he saw the calf, and the dancing: and Moses' anger waxed hot, and he cast the tables out of his hands, and brake them beneath the mount. %%% Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina: obusungu bwa Musa ne bwaka nnyo, n'akasuka ebipande mu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi, 02EXO032.020 And he took the calf which they had made, and burnt it in the fire, and ground it to powder, and strawed it upon the water, and made the children of Israel drink of it. %%% N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri. 02EXO032.021 And Moses said unto Aaron, What did this people unto thee, that thou hast brought so great a sin upon them? %%% Musa n'agamba Alooni nti Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene? 02EXO032.022 And Aaron said, Let not the anger of my lord wax hot: thou knowest the people, that they are set on mischief. %%% Alooni n'ayogera nti Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo: gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi. 02EXO032.023 For they said unto me, Make us gods, which shall go before us: for as for this Moses, the man that brought us up out of the land of Egypt, we wot not what is become of him. %%% Kubanga baŋŋamba nti Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga: kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. 02EXO032.024 And I said unto them, Whosoever hath any gold, let them break it off. So they gave it me: then I cast it into the fire, and there came out this calf. %%% Ne mbagamba nti Buli alina zaabu yonna yonna, bagimenyeko; awo ne bagimpa: ne ngiteeka mu muliro, n'ennyana eno n'evaamu. 02EXO032.025 And when Moses saw that the people were naked; (for Aaron had made them naked unto their shame among their enemies:) %%% Awo Musa bwe yalaba ng'abantu bajeemye; kubanga Alooni yabajeemya okusekererwa abalabe baabwe: 02EXO032.026 Then Moses stood in the gate of the camp, and said, Who is on the LORD's side? let him come unto me. And all the sons of Levi gathered themselves together unto him. %%% Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi. Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali. 02EXO032.027 And he said unto them, Thus saith the LORD God of Israel, Put every man his sword by his side, and go in and out from gate to gate throughout the camp, and slay every man his brother, and every man his companion, and every man his neighbour. %%% N'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Muteeke buli muntu ekitala kye ku kisambi kye, muddiiŋŋane mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, mutte buli muntu muganda we, na buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we. 02EXO032.028 And the children of Levi did according to the word of Moses: and there fell of the people that day about three thousand men. %%% Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa: ne bafa ku bantu ku lunaku luli abasajja nga nkumi ssatu. 02EXO032.029 For Moses had said, Consecrate yourselves today to the LORD, even every man upon his son, and upon his brother; that he may bestow upon you a blessing this day. %%% Musa n'ayogera nti Mwetukuze leero eri Mukama, newakubadde okulwana buli muntu n'omwana we, era ne muganda we; alyoke abawe leero omukisa. 02EXO032.030 And it came to pass on the morrow, that Moses said unto the people, Ye have sinned a great sin: and now I will go up unto the LORD; peradventure I shall make an atonement for your sin. %%% Awo olwatuuka enkya Musa n'agamba abantu nti Mwayonoonye ekyonoono ekinene: ne kaakano naalinnya eri Mukama; mpozzi naakola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe. 02EXO032.031 And Moses returned unto the LORD, and said, Oh, this people have sinned a great sin, and have made them gods of gold. %%% Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera bakatonda aba zaabu. 02EXO032.032 Yet now, if thou wilt forgive their sin--; and if not, blot me, I pray thee, out of thy book which thou hast written. %%% Naye kaakano, bw'onoosonyiwa ekyonoono kyabwe; naye bw'otoobasonyiwe, onsangule nze, nkwegayiridde, mu kitabo kyo kye wawandiika. 02EXO032.033 And the LORD said unto Moses, Whosoever hath sinned against me, him will I blot out of my book. %%% Mukama n'agamba Musa nti Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange. 02EXO032.034 Therefore now go, lead the people unto the place of which I have spoken unto thee: behold, mine Angel shall go before thee: nevertheless in the day when I visit I will visit their sin upon them. %%% Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako: laba, malayika wange anaakukulemberanga: era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe. 02EXO032.035 And the LORD plagued the people, because they made the calf, which Aaron made. %%% Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga baakola ennyana, Alooni gye yakola. 02EXO033.001 And the LORD said unto Moses, Depart, and go up hence, thou and the people which thou hast brought up out of the land of Egypt, unto the land which I sware unto Abraham, to Isaac, and to Jacob, saying, Unto thy seed will I give it: %%% Mukama n'agamba Musa nti Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo: 02EXO033.002 And I will send an angel before thee; and I will drive out the Canaanite, the Amorite, and the Hittite, and the Perizzite, the Hivite, and the Jebusite: %%% era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi: 02EXO033.003 Unto a land flowing with milk and honey: for I will not go up in the midst of thee; for thou art a stiffnecked people: lest I consume thee in the way. %%% mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki: kubanga nze siririnnya wakati mu mumwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: nneme okukuzikiriza mu kkubo. 02EXO033.004 And when the people heard these evil tidings, they mourned: and no man did put on him his ornaments. %%% Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala: ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo bye. 02EXO033.005 For the LORD had said unto Moses, Say unto the children of Israel, Ye are a stiffnecked people: I will come up into the midst of thee in a moment, and consume thee: therefore now put off thy ornaments from thee, that I may know what to do unto thee. %%% Mukama n'agamba Musa nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza: kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola. 02EXO033.006 And the children of Israel stripped themselves of their ornaments by the mount Horeb. %%% Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo. 02EXO033.007 And Moses took the tabernacle, and pitched it without the camp, afar off from the camp, and called it the Tabernacle of the congregation. And it came to pass, that every one which sought the LORD went out unto the tabernacle of the congregation, which was without the camp. %%% Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira. 02EXO033.008 And it came to pass, when Moses went out unto the tabernacle, that all the people rose up, and stood every man at his tent door, and looked after Moses, until he was gone into the tabernacle. %%% Era Musa bwe yafulumanga n'agendanga mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema. 02EXO033.009 And it came to pass, as Moses entered into the tabernacle, the cloudy pillar descended, and stood at the door of the tabernacle, and the Lord talked with Moses. %%% Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema: Mukama n'ayogera ne Musa. 02EXO033.010 And all the people saw the cloudy pillar stand at the tabernacle door: and all the people rose up and worshipped, every man in his tent door. %%% Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema: abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye. 02EXO033.011 And the LORD spake unto Moses face to face, as a man speaketh unto his friend. And he turned again into the camp: but his servant Joshua, the son of Nun, a young man, departed not out of the tabernacle. %%% Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate: naye omuweereza we, Yoswa, omwana wa Nuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema. 02EXO033.012 And Moses said unto the LORD, See, thou sayest unto me, Bring up this people: and thou hast not let me know whom thou wilt send with me. Yet thou hast said, I know thee by name, and thou hast also found grace in my sight. %%% Musa n'agamba Mukama nti Laba, ondagira nti Twala abantu bano: n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange. 02EXO033.013 Now therefore, I pray thee, if I have found grace in thy sight, shew me now thy way, that I may know thee, that I may find grace in thy sight: and consider that this nation is thy people. %%% Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo. 02EXO033.014 And he said, My presence shall go with thee, and I will give thee rest. %%% N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula. 02EXO033.015 And he said unto him, If thy presence go not with me, carry us not up hence. %%% N'amugamba nti Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano. 02EXO033.016 For wherein shall it be known here that I and thy people have found grace in thy sight? is it not in that thou goest with us? so shall we be separated, I and thy people, from all the people that are upon the face of the earth. %%% Kubanga kiritegeerebwa kitya nga nze nalaba ekisa mu maaso go, nze n'abantu bo? si kyekiriva kitegeerebwa kubanga ogenda naffe, n'okwawulwa ne twawulibwa, nze n'abantu bo, mu bantu bonna abali ku maaso g'ensi? 02EXO033.017 And the LORD said unto Moses, I will do this thing also that thou hast spoken: for thou hast found grace in my sight, and I know thee by name. %%% Mukama n'agamba Musa nti Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola: kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya. 02EXO033.018 And he said, I beseech thee, shew me thy glory. %%% N'ayogera nti Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo. 02EXO033.019 And he said, I will make all my goodness pass before thee, and I will proclaim the name of the LORD before thee; and will be gracious to whom I will be gracious, and will shew mercy on whom I will shew mercy. %%% N'ayogera nti Naayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go, era naatendera erinnya lya Mukama mu maaso go; era naamukwatirwanga ekisa gwe naakwatirwanga ekisa, era naamusaasiranga gwe naasaasiranga. 02EXO033.020 And he said, Thou canst not see my face: for there shall no man see me, and live. %%% N'ayogera nti Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu. 02EXO033.021 And the LORD said, Behold, there is a place by me, and thou shalt stand upon a rock: %%% Mukama n'ayogera nti Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja: 02EXO033.022 And it shall come to pass, while my glory passeth by, that I will put thee in a clift of the rock, and will cover thee with my hand while I pass by: %%% awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaaba nga kiyita, naakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo: 02EXO033.023 And I will take away mine hand, and thou shalt see my back parts: but my face shall not be seen. %%% ne nziyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange: naye amaaso gange tegaalabike. 02EXO034.001 And the LORD said unto Moses, Hew thee two tables of stone like unto the first: and I will write upon these tables the words that were in the first tables, which thou brakest. %%% Mukama n'agamba Musa nti Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya. 02EXO034.002 And be ready in the morning, and come up in the morning unto mount Sinai, and present thyself there to me in the top of the mount. %%% Era enkya obe nga weeteeseteese, olinnye enkya ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko y'olusozi. 02EXO034.003 And no man shall come up with thee, neither let any man be seen throughout all the mount; neither let the flocks nor herds feed before that mount. %%% So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo. 02EXO034.004 And he hewed two tables of stone like unto the first; and Moses rose up early in the morning, and went up unto mount Sinai, as the LORD had commanded him, and took in his hand the two tables of stone. %%% N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya mu makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja. 02EXO034.005 And the LORD descended in the cloud, and stood with him there, and proclaimed the name of the LORD. %%% Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'atendera erinnya lya Mukama. 02EXO034.006 And the LORD passed by before him, and proclaimed, The LORD, The LORD God, merciful and gracious, longsuffering, and abundant in goodness and truth, %%% Mukama n'ayita mu maaso ge, n'atendera nti Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi; 02EXO034.007 Keeping mercy for thousands, forgiving iniquity and transgression and sin, and that will by no means clear the guilty; visiting the iniquity of the fathers upon the children, and upon the children's children, unto the third and to the fourth generation. %%% ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi: era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana. 02EXO034.008 And Moses made haste, and bowed his head toward the earth, and worshipped. %%% Musa n'ayanguwa, n'avuunamya omutwe, n'asinza. 02EXO034.009 And he said, If now I have found grace in thy sight, O LORD, let my LORD, I pray thee, go among us; for it is a stiffnecked people; and pardon our iniquity and our sin, and take us for thine inheritance. %%% N'ayogera nti Bwe mba kaakano nga naalaba ekisa mu maaso go, ai Mukama, Mukama; atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo. 02EXO034.010 And he said, Behold, I make a covenant: before all thy people I will do marvels, such as have not been done in all the earth, nor in any nation: and all the people among which thou art shall see the work of the LORD: for it is a terrible thing that I will do with thee. %%% N'ayogera nti Laba, ndagaana endagaano: mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna: n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukoza kya ntiisa. 02EXO034.011 Observe thou that which I command thee this day: behold, I drive out before thee the Amorite, and the Canaanite, and the Hittite, and the Perizzite, and the Hivite, and the Jebusite. %%% Lowooza kino kye nkulagira leero: laba, ngoba mu maaso go Omwamoli, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi. 02EXO034.012 Take heed to thyself, lest thou make a covenant with the inhabitants of the land whither thou goest, lest it be for a snare in the midst of thee: %%% Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe: 02EXO034.013 But ye shall destroy their altars, break their images, and cut down their groves: %%% naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe: 02EXO034.014 For thou shalt worship no other god: for the LORD, whose name is Jealous, is a jealous God: %%% kubanga toosinzenga Katonda mulala yenna: kubanga Mukama, erinnya lye Waabuggya, ye Katonda ow'obuggya: 02EXO034.015 Lest thou make a covenant with the inhabitants of the land, and they go a whoring after their gods, and do sacrifice unto their gods, and one call thee, and thou eat of his sacrifice; %%% tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babawa ssaddaaka bakatonda baabwe, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye; 02EXO034.016 And thou take of their daughters unto thy sons, and their daughters go a whoring after their gods, and make thy sons go a whoring after their gods. %%% n'otwalira abaana bo abasajja ku bawala baabwe, abawala baabwe ne bayenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babayenza abaana bo nga bagoberera bakatonda baabwe, 02EXO034.017 Thou shalt make thee no molten gods. %%% Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse. 02EXO034.018 The feast of unleavened bread shalt thou keep. Seven days thou shalt eat unleavened bread, as I commanded thee, in the time of the month Abib: for in the month Abib thou camest out from Egypt. %%% Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu: kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri. 02EXO034.019 All that openeth the matrix is mine; and every firstling among thy cattle, whether ox or sheep, that is male. %%% Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga. 02EXO034.020 But the firstling of an ass thou shalt redeem with a lamb: and if thou redeem him not, then shalt thou break his neck. All the firstborn of thy sons thou shalt redeem. And none shall appear before me empty. %%% N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga: era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga obulago bwayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu. 02EXO034.021 Six days thou shalt work, but on the seventh day thou shalt rest: in earing time and in harvest thou shalt rest. %%% Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga: mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga. 02EXO034.022 And thou shalt observe the feast of weeks, of the firstfruits of wheat harvest, and the feast of ingathering at the year's end. %%% Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti, ye y'omwaka omubereberye ogw'eŋŋaano, n'embaga ey'okutereka omwaka nga guweddeko. 02EXO034.023 Thrice in the year shall all your menchildren appear before the LORD God, the God of Israel. %%% Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri. 02EXO034.024 For I will cast out the nations before thee, and enlarge thy borders: neither shall any man desire thy land, when thou shalt go up to appear before the LORD thy God thrice in the year. %%% Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo: so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka. 02EXO034.025 Thou shalt not offer the blood of my sacrifice with leaven; neither shall the sacrifice of the feast of the passover be left unto the morning. %%% Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukuswa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya. 02EXO034.026 The first of the firstfruits of thy land thou shalt bring unto the house of the LORD thy God. Thou shalt not seethe a kid in his mother's milk. %%% Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo. 02EXO034.027 And the LORD said unto Moses, Write thou these words: for after the tenor of these words I have made a covenant with thee and with Israel. %%% Mukama n'agamba Musa nti Ggwe wandiika ebigambo ebyo: kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri. 02EXO034.028 And he was there with the LORD forty days and forty nights; he did neither eat bread, nor drink water. And he wrote upon the tables the words of the covenant, the ten commandments. %%% N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi. 02EXO034.029 And it came to pass, when Moses came down from mount Sinai with the two tables of testimony in Moses' hand, when he came down from the mount, that Moses wist not that the skin of his face shone while he talked with him. %%% Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo za Musa, bwe yakka okuva ku lusozi, Musa n'atamanya ng'omubiri ogw'amaaso ge gumasamasa olw'okwogera naye. 02EXO034.030 And when Aaron and all the children of Israel saw Moses, behold, the skin of his face shone; and they were afraid to come nigh him. %%% Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, omubiri ogw'amaaso ge ne gumasamasa; ne batya okumusemberera. 02EXO034.031 And Moses called unto them; and Aaron and all the rulers of the congregation returned unto him: and Moses talked with them. %%% Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali: Musa n'ayogera nabo. 02EXO034.032 And afterward all the children of Israel came nigh: and he gave them in commandment all that the LORD had spoken with him in mount Sinai. %%% Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera: n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi. 02EXO034.033 And till Moses had done speaking with them, he put a vail on his face. %%% Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge. 02EXO034.034 But when Moses went in before the LORD to speak with him, he took the vail off, until he came out. And he came out, and spake unto the children of Israel that which he was commanded. %%% Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri bwe yalagirwanga; 02EXO034.035 And the children of Israel saw the face of Moses, that the skin of Moses' face shone: and Moses put the vail upon his face again, until he went in to speak with him. %%% abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, omubiri ogw'amaaso ge nga gumasamasa : Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye. 02EXO035.001 And Moses gathered all the congregation of the children of Israel together, and said unto them, These are the words which the LORD hath commanded, that ye should do them. %%% Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola. 02EXO035.002 Six days shall work be done, but on the seventh day there shall be to you an holy day, a sabbath of rest to the LORD: whosoever doeth work therein shall be put to death. %%% Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama: buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga. 02EXO035.003 Ye shall kindle no fire throughout your habitations upon the sabbath day. %%% Temukumanga muliro gwonna mu nnyumba zammwe zonna ku lunaku olwa ssabbiiti. 02EXO035.004 And Moses spake unto all the congregation of the children of Israel, saying, This is the thing which the LORD commanded, saying, %%% Musa n'abuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti 02EXO035.005 Take ye from among you an offering unto the LORD: whosoever is of a willing heart, let him bring it, an offering of the LORD; gold, and silver, and brass, %%% Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama: buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama; zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo; 02EXO035.006 And blue, and purple, and scarlet, and fine linen, and goats' hair, %%% ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; 02EXO035.007 And rams' skins dyed red, and badgers' skins, and shittim wood, %%% n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; 02EXO035.008 And oil for the light, and spices for anointing oil, and for the sweet incense, %%% n'amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; 02EXO035.009 And onyx stones, and stones to be set for the ephod, and for the breastplate. %%% n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba. 02EXO035.010 And every wise hearted among you shall come, and make all that the LORD hath commanded; %%% Era buli muntu mu mmwe alina omutima ogw'amagezi ajje akole byonna Mukama by'alagidde; 02EXO035.011 The tabernacle, his tent, and his covering, his taches, and his boards, his bars, his pillars, and his sockets, %%% ennyumba, eweema yaayo n'eky'okugibikkako, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 02EXO035.012 The ark, and the staves thereof, with the mercy seat, and the vail of the covering, %%% essanduuko, n'emisituliro gyayo, entebe ey'okusaasira, n'eggigi eryawulamu; 02EXO035.013 The table, and his staves, and all his vessels, and the shewbread, %%% emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; 02EXO035.014 The candlestick also for the light, and his furniture, and his lamps, with the oil for the light; %%% era n'ekikondo eky'ettabaaza, n'ebintu byakyo, n'ettabaaza zaakyo, n'amafuta ag'ettabaaza; 02EXO035.015 And the incense altar, and his staves, and the anointing oil, and the sweet incense, and the hanging for the door at the entering in of the tabernacle, %%% n'ekyoto eky'okwoterezangako, n'emisituliro gyakyo, n'amafuta ag'okufukako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'omu mulyango ogw'eweema; 02EXO035.016 The altar of burnt offering, with his brasen grate, his staves, and all his vessels, the laver and his foot, %%% ekyoto eky'okwokerangako ekiweebwayo, era n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 02EXO035.017 The hangings of the court, his pillars, and their sockets, and the hanging for the door of the court, %%% ebitimbibwa eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byazo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya; 02EXO035.018 The pins of the tabernacle, and the pins of the court, and their cords, %%% enninga ez'eweema, n'enninga ez'oluggya, n'emigwa gyabyo; 02EXO035.019 The cloths of service, to do service in the holy place, the holy garments for Aaron the priest, and the garments of his sons, to minister in the priest's office. %%% n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, eby'okuweererezangamu mu bwakabona. 02EXO035.020 And all the congregation of the children of Israel departed from the presence of Moses. %%% Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bava mu maaso ga Musa. 02EXO035.021 And they came, every one whose heart stirred him up, and every one whom his spirit made willing, and they brought the LORD's offering to the work of the tabernacle of the congregation, and for all his service, and for the holy garments. %%% Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu. 02EXO035.022 And they came, both men and women, as many as were willing hearted, and brought bracelets, and earrings, and rings, and tablets, all jewels of gold: and every man that offered offered an offering of gold unto the LORD. %%% Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemu, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama. 02EXO035.023 And every man, with whom was found blue, and purple, and scarlet, and fine linen, and goats' hair, and red skins of rams, and badgers' skins, brought them. %%% Na buli muntu eyalabika ng'alina kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋoonge, n'abireeta. 02EXO035.024 Every one that did offer an offering of silver and brass brought the LORD's offering: and every man, with whom was found shittim wood for any work of the service, brought it. %%% Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama: na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta. 02EXO035.025 And all the women that were wise hearted did spin with their hands, and brought that which they had spun, both of blue, and of purple, and of scarlet, and of fine linen. %%% N'abakazi bonna abaalina emitima egy'amagezi ne balanga n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. 02EXO035.026 And all the women whose heart stirred them up in wisdom spun goats' hair. %%% N'abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza mu magezi ne balanga ebyoya by'embuzi. 02EXO035.027 And the rulers brought onyx stones, and stones to be set, for the ephod, and for the breastplate; %%% N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba; 02EXO035.028 And spice, and oil for the light, and for the anointing oil, and for the sweet incense. %%% n'eby'akaloosa, n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako, n'olw'obubaane obuwoomerevu. 02EXO035.029 The children of Israel brought a willing offering unto the LORD, every man and woman, whose heart made them willing to bring for all manner of work, which the LORD had commanded to be made by the hand of Moses. %%% Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, emitima gyabwe be gyakkirizisa okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa. 02EXO035.030 And Moses said unto the children of Israel, See, the LORD hath called by name Bezaleel the son of Uri, the son of Hur, of the tribe of Judah; %%% Musa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Laba, Mukama ayise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda; 02EXO035.031 And he hath filled him with the spirit of God, in wisdom, in understanding, and in knowledge, and in all manner of workmanship; %%% era amujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y'okukola: 02EXO035.032 And to devise curious works, to work in gold, and in silver, and in brass, %%% n'okuyiiya emirimu egy'amagezi, n'okukola omulimu gwa zaabu, n'ogwa ffeeza, n'ogw'ekikomo, 02EXO035.033 And in the cutting of stones, to set them, and in carving of wood, to make any manner of cunning work. %%% n'ogw'okusala amayinja ag'okutona, n'ogw'okwola emiti, okukola buli ngeri y'emirimu egy'amagezi. 02EXO035.034 And he hath put in his heart that he may teach, both he, and Aholiab, the son of Ahisamach, of the tribe of Dan. %%% Era ateese mu mutima gwe okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani. 02EXO035.035 Them hath he filled with wisdom of heart, to work all manner of work, of the engraver, and of the cunning workman, and of the embroiderer, in blue, and in purple, in scarlet, and in fine linen, and of the weaver, even of them that do any work, and of those that devise cunning work. %%% Abo abajjuzizza emitima gyabwe amagezi, okukola buli ngeri y'emirimu, egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omukozi ow'amagezi, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi egya bonna abakola emirimu gyonna gyonna, n'abo abayiiya emirimu egy'amagezi. 02EXO036.001 Then wrought Bezaleel and Aholiab, and every wise hearted man, in whom the LORD put wisdom and understanding to know how to work all manner of work for the service of the sanctuary, according to all that the LORD had commanded. %%% Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina omutima ogw'amagezi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira. 02EXO036.002 And Moses called Bezaleel and Aholiab, and every wise hearted man, in whose heart the LORD had put wisdom, even every one whose heart stirred him up to come unto the work to do it: %%% Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina , omutima ogw'amagezi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe, buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza okujja ku mulimu okugukola: 02EXO036.003 And they received of Moses all the offering, which the children of Israel had brought for the work of the service of the sanctuary, to make it withal. And they brought yet unto him free offerings every morning. %%% Musa n'abawa ekiweebwayo kyonna abaana ba Isiraeri kye baaleeta olw'emirimu egy'okuweereza okw'omu watukuvu, okugikola. Era ne bamuleeteranga ebiweebwayo n'emyoyo egy'eddembe buli nkya. 02EXO036.004 And all the wise men, that wrought all the work of the sanctuary, came every man from his work which they made; %%% N'ab'amagezi bonna, abaakola emirimu gyonna egy'omu watukuvu, ne bava buli muntu ku mulimu gwe, gwe baali bakola; 02EXO036.005 And they spake unto Moses, saying, The people bring much more than enough for the service of the work, which the LORD commanded to make. %%% ne bagamba Musa nti Abantu baleeta bingi ebisukkiridde ennyo okumala okukola emirimu, Mukama gye yalagira okukola. 02EXO036.006 And Moses gave commandment, and they caused it to be proclaimed throughout the camp, saying, Let neither man nor woman make any more work for the offering of the sanctuary. So the people were restrained from bringing. %%% Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna, nti Omusaja era n'omukazi alekere awo okukola nate omulimu gwonna ogw'ekiweebwayo eky'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta. 02EXO036.007 For the stuff they had was sufficient for all the work to make it, and too much. %%% Kubanga ebintu bye baali nabyo byamala emirimu gyonna okugikola, era byasukkirirawo. 02EXO036.008 And every wise hearted man among them that wrought the work of the tabernacle made ten curtains of fine twined linen, and blue, and purple, and scarlet: with cherubims of cunning work made he them. %%% Na buli muntu eyalina omutima ogw'amagezi eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yagukola. 02EXO036.009 The length of one curtain was twenty and eight cubits, and the breadth of one curtain four cubits: the curtains were all of one size. %%% Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna gyali gya kigero kimu. 02EXO036.010 And he coupled the five curtains one unto another: and the other five curtains he coupled one unto another. %%% N'agatta emitanda etaano gyokka na gyokka: era n'emitanda etaano emirala n'agigatta gyokka na gyokka. 02EXO036.011 And he made loops of blue on the edge of one curtain from the selvedge in the coupling: likewise he made in the uttermost side of another curtain, in the coupling of the second. %%% N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte: era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 02EXO036.012 Fifty loops made he in one curtain, and fifty loops made he in the edge of the curtain which was in the coupling of the second: the loops held one curtain to another. %%% Yakola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri: eŋŋango zaalabagana zokka na zokka. 02EXO036.013 And he made fifty taches of gold, and coupled the curtains one unto another with the taches: so it became one tabernacle. %%% Era n'akola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, n'agatta emitanda gyokka m gyokka n'ebikwaso: eweema n'ebeera emu. 02EXO036.014 And he made curtains of goats' hair for the tent over the tabernacle: eleven curtains he made them. %%% Era n'akola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: yakola emitanda kkumi na gumu. 02EXO036.015 The length of one curtain was thirty cubits, and four cubits was the breadth of one curtain: the eleven curtains were of one size. %%% Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu gyali gya kigero kimu. 02EXO036.016 And he coupled five curtains by themselves, and six curtains by themselves. %%% N'agatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka. 02EXO036.017 And he made fifty loops upon the uttermost edge of the curtain in the coupling, and fifty loops made he upon the edge of the curtain which coupleth the second. %%% N'akola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano n'azikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 02EXO036.018 And he made fifty taches of brass to couple the tent together, that it might be one. %%% Era n'akola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo okugatta eweema, ebeere emu. 02EXO036.019 And he made a covering for the tent of rams' skins dyed red, and a covering of badgers' skins above that. %%% Era n'agikolera eweema eky'okugibikkako eky'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge. 02EXO036.020 And he made boards for the tabernacle of shittim wood, standing up. %%% Era n'akola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, okuyimirira. 02EXO036.021 The length of a board was ten cubits, and the breadth of a board one cubit and a half. %%% Emikono kkumi bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo. 02EXO036.022 One board had two tenons, equally distant one from another: thus did he make for all the boards of the tabernacle. %%% Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka: bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema. 02EXO036.023 And he made boards for the tabernacle; twenty boards for the south side southward: %%% N'akola embaawo ez'eweema; embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo: 02EXO036.024 And forty sockets of silver he made under the twenty boards; two sockets under one board for his two tenons, and two sockets under another board for his two tenons. %%% era n'akola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri. 02EXO036.025 And for the other side of the tabernacle, which is toward the north corner, he made twenty boards, %%% Era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'akola embaawo amakumi abiri, 02EXO036.026 And their forty sockets of silver; two sockets under one board, and two sockets under another board. %%% n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 02EXO036.027 And for the sides of the tabernacle westward he made six boards. %%% Era ez'oluuyi olw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba n'akola embaawomukaaga. 02EXO036.028 And two boards made he for the corners of the tabernacle in the two sides. %%% Era n'akola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. 02EXO036.029 And they were coupled beneath, and coupled together at the head thereof, to one ring: thus he did to both of them in both the corners. %%% Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu: bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi. 02EXO036.030 And there were eight boards; and their sockets were sixteen sockets of silver, under every board two sockets. %%% Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo. 02EXO036.031 And he made bars of shittim wood; five for the boards of the one side of the tabernacle, %%% Era n'akola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi lumu olw'eweema, 02EXO036.032 And five bars for the boards of the other side of the tabernacle, and five bars for the boards of the tabernacle for the sides westward. %%% n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olulala olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'eweema ez'oluuyi olw'emabega olw'ebugwanjuba. 02EXO036.033 And he made the middle bar to shoot through the boards from the one end to the other. %%% N'omuti ogwa wakati n'aguyisa wakati mu mbaawo eruuyi n'eruuyi. 02EXO036.034 And he overlaid the boards with gold, and made their rings of gold to be places for the bars, and overlaid the bars with gold. %%% N'embaawo n'azibikkako zaabu, n'akola empeta zaazo eza zaabu omw'okuteekera emiti, n'emiti n'agibikkako zaabu. 02EXO036.035 And he made a vail of blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen: with cherubims made he it of cunning work. %%% N'akola eggigi erya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yalikola. 02EXO036.036 And he made thereunto four pillars of shittim wood, and overlaid them with gold: their hooks were of gold; and he cast for them four sockets of silver. %%% N'alikolera empagi nnya ez'omuti gwa sita, n'azibikkako zaabu: n'ebikwaso byazo byali bya zaabu; n'azifumbira ebinnya bina ebya ffeeza. 02EXO036.037 And he made an hanging for the tabernacle door of blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen, of needlework; %%% N'alukolera akatimba oluggi olw'eweema, aka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza; 02EXO036.038 And the five pillars of it with their hooks: and he overlaid their chapiters and their fillets with gold: but their five sockets were of brass. %%% n'empagi zaako ttaano n'ebikwaso byazo: n'emitwe gyazo n'emiziziko gyazo n'abibikkako zaabu: n'ebinnya byazo bitaano byali bya bikomo. 02EXO037.001 And Bezaleel made the ark of shittim wood: two cubits and a half was the length of it, and a cubit and a half the breadth of it, and a cubit and a half the height of it: %%% Bezaaleeri n'akola essanduuko ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo bwali emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu: 02EXO037.002 And he overlaid it with pure gold within and without, and made a crown of gold to it round about. %%% n'agibikkako zaabu ennungi munda ne kungulu, n'agikolera engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO037.003 And he cast for it four rings of gold, to be set by the four corners of it; even two rings upon the one side of it, and two rings upon the other side of it. %%% N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, mu magulu gaayo ana; empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olumu, n'empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olw'okubiri. 02EXO037.004 And he made staves of shittim wood, and overlaid them with gold. %%% N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu. 02EXO037.005 And he put the staves into the rings by the sides of the ark, to bear the ark. %%% N'ayingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, okusitula essanduuko. 02EXO037.006 And he made the mercy seat of pure gold: two cubits and a half was the length thereof, and one cubit and a half the breadth thereof. %%% N'akola entebe ey'okusaasira eya zaabu ennungi: obuwanvu bwayo emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu. 02EXO037.007 And he made two cherubims of gold, beaten out of one piece made he them, on the two ends of the mercy seat; %%% N'akola bakerubi babiri aba zaabu; yabakola n'eyaweesebwa, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira; 02EXO037.008 One cherub on the end on this side, and another cherub on the other end on that side: out of the mercy seat made he the cherubims on the two ends thereof. %%% kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi omu ku nsonda eyo: yakola bakerubi mu kitundu eky'entebe ey'okusaasira ku nsonda zaayo ebbiri. 02EXO037.009 And the cherubims spread out their wings on high, and covered with their wings over the mercy seat, with their faces one to another; even to the mercy seatward were the faces of the cherubims. %%% Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi baatunuulira entebe ey'okusaasira. 02EXO037.010 And he made the table of shittim wood: two cubits was the length thereof, and a cubit the breadth thereof, and a cubit and a half the height thereof: %%% N'akola emmeeza ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo emikono ebiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu: 02EXO037.011 And he overlaid it with pure gold, and made thereunto a crown of gold round about. %%% n'agibikkako zaabu ennungi, n'agikolako engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO037.012 Also he made thereunto a border of an handbreadth round about; and made a crown of gold for the border thereof round about. %%% N'agikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, n'alukolera olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO037.013 And he cast for it four rings of gold, and put the rings upon the four corners that were in the four feet thereof. %%% N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, n'ateeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana. 02EXO037.014 Over against the border were the rings, the places for the staves to bear the table. %%% Kumpi n'olukugiro we zaali empeta, ebifo eby'emisituliro gisitulenga emmeeza. 02EXO037.015 And he made the staves of shittim wood, and overlaid them with gold, to bear the table. %%% N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu, okusitulanga emmeeza. 02EXO037.016 And he made the vessels which were upon the table, his dishes, and his spoons, and his bowls, and his covers to cover withal, of pure gold. %%% N'akola ebintu ebyabeeranga ku mmeeza, essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ebibya byayo, n'ensuwa zaayo, okufuka nabyo, ne zaabu ennungi. 02EXO037.017 And he made the candlestick of pure gold: of beaten work made he the candlestick; his shaft, and his branch, his bowls, his knops, and his flowers, were of the same: %%% N'akola ekikondo ekya zaabu ennungi: yakola ekikondo n'eyaweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo byali bya zaabu emu nakyo: 02EXO037.018 And six branches going out of the sides thereof; three branches of the candlestick out of the one side thereof, and three branches of the candlestick out of the other side thereof: %%% era amatabi mukaaga gaava ku mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olumu, n'amatabi asatu eg'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olw'okubiri: 02EXO037.019 Three bowls made after the fashion of almonds in one branch, a knop and a flower; and three bowls made like almonds in another branch, a knop and a flower: so throughout the six branches going out of the candlestick. %%% ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli: bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo. 02EXO037.020 And in the candlestick were four bowls made like almonds, his knops, and his flowers: %%% Ne mu kikondo mwalimu ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyabyo n'ebimuli byabyo: 02EXO037.021 And a knop under two branches of the same, and a knop under two branches of the same, and a knop under two branches of the same, according to the six branches going out of it. %%% n'omutwe gwali wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agaakivaako. 02EXO037.022 Their knops and their branches were of the same: all of it was one beaten work of pure gold. %%% Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byali bya zaabu emu nakyo: kyonna kyali mulimu muweese ogumu ogwa zaabu ennungi. 02EXO037.023 And he made his seven lamps, and his snuffers, and his snuffdishes, of pure gold. %%% N'akola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, ne zaabu ennungi. 02EXO037.024 Of a talent of pure gold made he it, and all the vessels thereof. %%% Yakikola ne ttalanta eya zaabu ennungi, n'ebintu byakyo byonna. 02EXO037.025 And he made the incense altar of shittim wood: the length of it was a cubit, and the breadth of it a cubit; it was foursquare; and two cubits was the height of it; the horns thereof were of the same. %%% N'akola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane eky'omuti gwa sita : obuwanvu bwakyo bwali mukono, n'obugazi bwakyo mukono, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo bwali emikono ebiri; amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo. 02EXO037.026 And he overlaid it with pure gold, both the top of it, and the sides thereof round about, and the horns of it: also he made unto it a crown of gold round about. %%% N'akibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo: n'akikolako engule eya zaabu okwetooloola. 02EXO037.027 And he made two rings of gold for it under the crown thereof, by the two corners of it, upon the two sides thereof, to be places for the staves to bear it withal. %%% N'akikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi, okuba ebifo eby'emisituliro okukisitulirangako. 02EXO037.028 And he made the staves of shittim wood, and overlaid them with gold. %%% N'akola emisituliro n'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu. 02EXO037.029 And he made the holy anointing oil, and the pure incense of sweet spices, according to the work of the apothecary. %%% N'akola amafuta amatukuvu ag'okufukangako, n'obubaane obulongoofu obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu, ng'amagezi ag'omukozi w'omugavu bwe gali. 02EXO038.001 And he made the altar of burnt offering of shittim wood: five cubits was the length thereof, and five cubits the breadth thereof; it was foursquare; and three cubits the height thereof. %%% N'akola ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo eky'omuti gwa sita: obuwanvu bwakyo bwali emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo emikono esatu. 02EXO038.002 And he made the horns thereof on the four corners of it; the horns thereof were of the same: and he overlaid it with brass. %%% N'akola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo gaali ga mulimu gumu nakyo: n'akibikkako ekikomo. 02EXO038.003 And he made all the vessels of the altar, the pots, and the shovels, and the basons, and the fleshhooks, and the firepans: all the vessels thereof made he of brass. %%% N'akola ebintu byonna eby'ekyoto, entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, n'eby'okukwasa ennyama, n'emmumbiro: ebintu byakyo byonna yabikola n'ebikomo. 02EXO038.004 And he made for the altar a brasen grate of network under the compass thereof beneath unto the midst of it. %%% N'akikolera ekyoto ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa, wansi w'omuziziko ogukyetooloola wansi, n'akituusa wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. 02EXO038.005 And he cast four rings for the four ends of the grate of brass, to be places for the staves. %%% N'afumbira empeta nnya ensonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okuba ebifo eby'e misituliro. 02EXO038.006 And he made the staves of shittim wood, and overlaid them with brass. %%% N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako ebikomo. 02EXO038.007 And he put the staves into the rings on the sides of the altar, to bear it withal; he made the altar hollow with boards. %%% N'ayingiza emisituliro mu mpeta ez'oku mbiriizi ez'ekyoto, okukisitulirangako; yakikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda. 02EXO038.008 And he made the laver of brass, and the foot of it of brass, of the lookingglasses of the women assembling, which assembled at the door of the tabernacle of the congregation. %%% N'akola eky'okunaabirangamu eky'ekikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, n'endabirwamu ez'abakazi abaweereza abaaweerezanga ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 02EXO038.009 And he made the court: on the south side southward the hangings of the court were of fine twined linen, an hundred cubits: %%% N'akola oluggya: ebyatimbibwa eby'oluggya eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo obukiika obwa ddyo byali bya bafuta ennungi erangiddwa, emikono kikumi: 02EXO038.010 Their pillars were twenty, and their brasen sockets twenty; the hooks of the pillars and their fillets were of silver. %%% empagi zaabyo zaali amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo byali bya ffeeza. 02EXO038.011 And for the north side the hangings were an hundred cubits, their pillars were twenty, and their sockets of brass twenty; the hooks of the pillars and their fillets of silver. %%% N'eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono emikono kikumi, empagi zaabyo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 02EXO038.012 And for the west side were hangings of fifty cubits, their pillars ten, and their sockets ten; the hooks of the pillars and their fillets of silver. %%% N'ebyatimbibwa eby'oluuyi olw'ebugwanjuba bya mikono ataano, empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 02EXO038.013 And for the east side eastward fifty cubits. %%% N'eby'oluuyi olw'ebuvanjuba ku buvanjuba emikono ataano. 02EXO038.014 The hangings of the one side of the gate were fifteen cubits; their pillars three, and their sockets three. %%% Ebyatimbibwa eby'oku luuyi olumu oluliko omulyango byali bya mikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu; 02EXO038.015 And for the other side of the court gate, on this hand and that hand, were hangings of fifteen cubits; their pillars three, and their sockets three. %%% n'oluuyi olulala bwe lutyo; eruuyi n'eruuyi ku mulyango ogw'oluggya waaliwo ebyatimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 02EXO038.016 All the hangings of the court round about were of fine twined linen. %%% Ebyatimbibwa byonna eby'oluggya eby'enjuyi zonna byali bya bafuta ennungi erangiddwa. 02EXO038.017 And the sockets for the pillars were of brass; the hooks of the pillars and their fillets of silver; and the overlaying of their chapiters of silver; and all the pillars of the court were filleted with silver. %%% N'ebinnya eby'empagi byali bya bikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza; n'emitwe gyazo gyabikkibwako ffeeza; n'empagi zonna ez'oluggya zaateekebwako emiziziko gya ffeeza. 02EXO038.018 And the hanging for the gate of the court was needlework, of blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen: and twenty cubits was the length, and the height in the breadth was five cubits, answerable to the hangings of the court. %%% N'akatimba ak'oluggi olw'oluggya kaali mulimu gwa mudaliza, ka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa : n'obuwanvu bwako bwali emikono abiri, n'obugulumivu mu bugazi bwako bwali emikono etaano, okwenkanankana n'ebyatimbibwa eby'oluggya. 02EXO038.019 And their pillars were four, and their sockets of brass four; their hooks of silver, and the overlaying of their chapiters and their fillets of silver. %%% N'empagi zaabyo zaali nnya, n'ebinnya byazo bina, eby'ebikomo; ebikwaso byazo bya ffeeza, n'eby'okubikka ku mitwe gyazo n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 02EXO038.020 And all the pins of the tabernacle, and of the court round about, were of brass. %%% N'enninga zonna ez'eweema, n'ez'oluggya okwetooloola, byali bya bikomo. 02EXO038.021 This is the sum of the tabernacle, even of the tabernacle of testimony, as it was counted, according to the commandment of Moses, for the service of the Levites, by the hand of Ithamar, son to Aaron the priest. %%% Guno gwe muwendo ogw'ebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwa nga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona. 02EXO038.022 And Bezaleel the son of Uri, the son of Hur, of the tribe of Judah, made all that the LORD commanded Moses. %%% Ne Bezaaleeri, omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda, ye yakola byonna Mukama bye yalagira Musa. 02EXO038.023 And with him was Aholiab, son of Ahisamach, of the tribe of Dan, an engraver, and a cunning workman, and an embroiderer in blue, and in purple, and in scarlet, and fine linen. %%% Era wamu naye waaliwo Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani, omusazi w'amayinja, era omukozi ow'amagezi, era omudaliza wa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. 02EXO038.024 All the gold that was occupied for the work in all the work of the holy place, even the gold of the offering, was twenty and nine talents, and seven hundred and thirty shekels, after the shekel of the sanctuary. %%% Zaabu yonna gye baakoza omulimu mu mulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda, ne sekeri lusanvu mu amakumi asatu, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri. 02EXO038.025 And the silver of them that were numbered of the congregation was an hundred talents, and a thousand seven hundred and threescore and fifteen shekels, after the shekel of the sanctuary: %%% Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi, ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri: 02EXO038.026 A bekah for every man, that is, half a shekel, after the shekel of the sanctuary, for every one that went to be numbered, from twenty years old and upward, for six hundred thousand and three thousand and five hundred and fifty men. %%% buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri, buli muntu eyayita okugenda mu abo abaabaliddwa, abaakamala emyaka abiri oba kusukkawo, abantu obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 02EXO038.027 And of the hundred talents of silver were cast the sockets of the sanctuary, and the sockets of the vail; an hundred sockets of the hundred talents, a talent for a socket. %%% Ne ttalanta kikumi eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi byava mu ttalanta kikumi, buli kinnya ttalanta. 02EXO038.028 And of the thousand seven hundred seventy and five shekels he made hooks for the pillars, and overlaid their chapiters, and filleted them. %%% Ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano n'azikoza ebikwaso eby'empagi, n'abikka ku mitwe gyazo, n'azikolako emiziziko. 02EXO038.029 And the brass of the offering was seventy talents, and two thousand and four hundred shekels. %%% N'ebikomo eby'ekiweebwayo; byali ettalanta nsanvu, ne sekeri enkumi bbiri mu bina. 02EXO038.030 And therewith he made the sockets to the door of the tabernacle of the congregation, and the brasen altar, and the brasen grate for it, and all the vessels of the altar, %%% Nabyo, n'abikoza ebinnya eby'oluggi olw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'ekyoto, 02EXO038.031 And the sockets of the court round about, and the sockets of the court gate, and all the pins of the tabernacle, and all the pins of the court round about. %%% n'ebinnya eby'oluggya okwetooloola n'ebinnya eby'oluggi olw'oluggya, n'enninga zonna ez'eweema, n'enninga zonna ez'oluggya okwetooloola. 02EXO039.001 And of the blue, and purple, and scarlet, they made cloths of service, to do service in the holy place, and made the holy garments for Aaron; as the LORD commanded Moses. %%% Ne kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu Mukama nga bwe yalagira Musa. 02EXO039.002 And he made the ephod of gold, blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen. %%% N'akola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, erangiddwa. 02EXO039.003 And they did beat the gold into thin plates, and cut it into wires, to work it in the blue, and in the purple, and in the scarlet, and in the fine linen, with cunning work. %%% Ne baweesa zaabu, ne bagifuula ebipaapi, ne bagikomolamu obunyere, okugirunga mu kaniki, ne mu lugoye olw'effulungu, ne mu lumyufu, ne mu bafuta ennungi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi. 02EXO039.004 They made shoulderpieces for it, to couple it together: by the two edges was it coupled together. %%% Ne bagikolako eby'okubibegabega ebyagattibwa: yagattibwa ku nsonda zaayo zombi. 02EXO039.005 And the curious girdle of his ephod, that was upon it, was of the same, according to the work thereof; of gold, blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen; as the LORD commanded Moses. %%% N'olukoba olw'alangibwa n'amagezi, olwagiriko, okugisibyanga, lwali lwa lugoye lumu nayo era omulimu gwalwo gwafaanaaa nga yo; lwa zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO039.006 And they wrought onyx stones inclosed in ouches of gold, graven, as signets are graven, with the names of the children of Israel. %%% Ne balongoosa amayinja aga onuku, ne gayingizibwa mu mapeesa aga zaabu, ne gasalibwako ng'akabonero bwe kasalibwa, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri bwe gaali. 02EXO039.007 And he put them on the shoulders of the ephod, that they should be stones for a memorial to the children of Israel; as the LORD commanded Moses. %%% N'agateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukizanga eri abaana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO039.008 And he made the breastplate of cunning work, like the work of the ephod; of gold, blue, and purple, and scarlet, and fine twined linen. %%% N'akola eky'omu kifuba, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi okufaanana ng'omulimu ogw'ekkanzu; kya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa. 02EXO039.009 It was foursquare; they made the breastplate double: a span was the length thereof, and a span the breadth thereof, being doubled. %%% Kyenkanankana enjuyi zonna; eky'omu kifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu. 02EXO039.010 And they set in it four rows of stones: the first row was a sardius, a topaz, and a carbuncle: this was the first row. %%% Ne bakiteekamu ennyiziri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, ne topazi, ne kabunkulo lwe lwali olunnyiriri olw'olubereberye. 02EXO039.011 And the second row, an emerald, a sapphire, and a diamond. %%% N'olunnyiriri olw'okubiri ejjinja erya nnawandagala, safiro, ne alimasi. 02EXO039.012 And the third row, a ligure, an agate, and an amethyst. %%% N'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, sebu, ne amesusito. 02EXO039.013 And the fourth row, a beryl, an onyx, and a jasper: they were inclosed in ouches of gold in their inclosings. %%% N'olunnyiriri olw'okuna berulo, onuku, ne yasipero: geetooloozebwa zaabu we gatonebwa. 02EXO039.014 And the stones were according to the names of the children of Israel, twelve, according to their names, like the engravings of a signet, every one with his name, according to the twelve tribes. %%% Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri. 02EXO039.015 And they made upon the breastplate chains at the ends, of wreathen work of pure gold. %%% Ne bakola ku ky'omu kifuba emikuufu ng'emigwa, obw'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. 02EXO039.016 And they made two ouches of gold, and two gold rings; and put the two rings in the two ends of the breastplate. %%% Ne bakola amapeesa abiri aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba. 02EXO039.017 And they put the two wreathen chains of gold in the two rings on the ends of the breastplate. %%% Ne bateeka emikuufu gyombi obwa zaabu obulangibwa ku mpeta zombi ku nkomerero ez'eky'omu kifuba. 02EXO039.018 And the two ends of the two wreathen chains they fastened in the two ouches, and put them on the shoulderpieces of the ephod, before it. %%% N'enkomerero zombi endala ez'emikuufu gyombi egirangibwa ne baziteeka ku mapeesa gombi, ne bagateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. 02EXO039.019 And they made two rings of gold, and put them on the two ends of the breastplate, upon the border of it, which was on the side of the ephod inward. %%% Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba, ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. 02EXO039.020 And they made two other golden rings, and put them on the two sides of the ephod underneath, toward the forepart of it, over against the other coupling thereof, above the curious girdle of the ephod. %%% Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku by'oku bibegabega byombi eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi. 02EXO039.021 And they did bind the breastplate by his rings unto the rings of the ephod with a lace of blue, that it might be above the curious girdle of the ephod, and that the breastplate might not be loosed from the ephod; as the LORD commanded Moses. %%% Ne basiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO039.022 And he made the robe of the ephod of woven work, all of blue. %%% N'akola omunagiro ogw'omu kkanzu gwa mulimu ogulangibwa, gwa kaniki gwonna; 02EXO039.023 And there was an hole in the midst of the robe, as the hole of an habergeon, with a band round about the hole, that it should not rend. %%% n'ekituli eky'omunagiro wakati mu gwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, nga guliko olukugiro okwetooloola ekituli kyagwo, guleme okuyuzibwa. 02EXO039.024 And they made upon the hems of the robe pomegranates of blue, and purple, and scarlet, and twined linen. %%% Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga aga kaniki n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, n'aga bafuta erangiddwa. 02EXO039.025 And they made bells of pure gold, and put the bells between the pomegranates upon the hem of the robe, round about between the pomegranates; %%% Ne bakola endege eza zaabu ennungi, ne bateeka endege wakati w'amakomamawanga ku birenge by'omunagiro okwetooloola, wakati w'amakomamawanga; 02EXO039.026 A bell and a pomegranate, a bell and a pomegranate, round about the hem of the robe to minister in; as the LORD commanded Moses. %%% endege n'ekkomamawanga, endege n'ekkomamawanga, ku bireage by'omunagiro okwetooloola, okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO039.027 And they made coats of fine linen of woven work for Aaron, and for his sons, %%% Ne bakolera Alooni ebizibawo ebya bafuta ennungi eby'omulimu ogulangibwa, n'abaana be, 02EXO039.028 And a mitre of fine linen, and goodly bonnets of fine linen, and linen breeches of fine twined linen, %%% n'ekiremba ekya bafuta ennungi, n'enkuufiira ennungi eza bafuta ennungi, ne seruwale eza bafuta ennungi erangiddwa, 02EXO039.029 And a girdle of fine twined linen, and blue, and purple, and scarlet, of needlework; as the LORD commanded Moses. %%% n'olukoba olwa bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, omulimu ogw'omudaliza; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO039.030 And they made the plate of the holy crown of pure gold, and wrote upon it a writing, like to the engravings of a signet, HOLINESS TO THE LORD. %%% Ne bakola akapande ak'oku ngule entukuvu aka zaabu ennungi, ne bakawandiikako abigambo, ng'ebiwandiikibwa ku kabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. 02EXO039.031 And they tied unto it a lace of blue, to fasten it on high upon the mitre; as the LORD commanded Moses. %%% Ne bakasibako akagoye aka kaniki, okukasiba ku kiremba waggulu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO039.032 Thus was all the work of the tabernacle of the tent of the congregation finished: and the children of Israel did according to all that the LORD commanded Moses, so did they. %%% Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa: era abaana ba Isiraeri baakola nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe baakola bwe batyo. 02EXO039.033 And they brought the tabernacle unto Moses, the tent, and all his furniture, his taches, his boards, his bars, and his pillars, and his sockets, %%% Ne bagireetera Musa ennyumba, Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 02EXO039.034 And the covering of rams' skins dyed red, and the covering of badgers' skins, and the vail of the covering, %%% n'eky'okubikkako eky'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, n'eky'okubikkako eky'amaliba g'eŋŋonge, n'eggigi eryawulamu; 02EXO039.035 The ark of the testimony, and the staves thereof, and the mercy seat, %%% essanduuko ey'obujulirwa, n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'okusaasira; 02EXO039.036 The table, and all the vessels thereof, and the shewbread, %%% emmeeza, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; 02EXO039.037 The pure candlestick, with the lamps thereof, even with the lamps to be set in order, and all the vessels thereof, and the oil for light, %%% ekikondo ekirongoofu, eby'ettabaaza byakyo, bye by'ettabaaza eby'okulongoosebwanga, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta ag'ettabaaza; 02EXO039.038 And the golden altar, and the anointing oil, and the sweet incense, and the hanging for the tabernacle door, %%% n'ekyoto ekya zaabu, n'amafuta ag'okufukangako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'eweema; 02EXO039.039 The brasen altar, and his grate of brass, his staves, and all his vessels, the laver and his foot, %%% ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 02EXO039.040 The hangings of the court, his pillars, and his sockets, and the hanging for the court gate, his cords, and his pins, and all the vessels of the service of the tabernacle, for the tent of the congregation, %%% eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya, emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'eweema ey'okusisinkanirangamu; 02EXO039.041 The cloths of service to do service in the holy place, and the holy garments for Aaron the priest, and his sons' garments, to minister in the priest's office. %%% ebyambalo ebyakolebwa obulungi eby'okuweererezangamu mu watukuvu, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweererezangamu mu bwakabona. 02EXO039.042 According to all that the LORD commanded Moses, so the children of Israel made all the work. %%% Nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola omulimu gwonna. 02EXO039.043 And Moses did look upon all the work, and, behold, they had done it as the LORD had commanded, even so had they done it: and Moses blessed them. %%% Musa n'alaba omulimu gwonna, era, laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala: Musa n'abasabira omukisa. 02EXO040.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 02EXO040.002 On the first day of the first month shalt thou set up the tabernacle of the tent of the congregation. %%% Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye olisimba ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu. 02EXO040.003 And thou shalt put therein the ark of the testimony, and cover the ark with the vail. %%% Era oligiteekamu essanduuko ey'obujulirwa, era olitimba eggigi ku ssanduuko. 02EXO040.004 And thou shalt bring in the table, and set in order the things that are to be set in order upon it; and thou shalt bring in the candlestick, and light the lamps thereof. %%% Era oliyingiza emmeeza, n'oteekateeka ebintu ebigiriko; n'oyingiza ekikondo, n'okoleeza ettabaaza zaakyo. 02EXO040.005 And thou shalt set the altar of gold for the incense before the ark of the testimony, and put the hanging of the door to the tabernacle. %%% Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky'okwoterezangako obubaane mu maaso g'essanduuko ey'obujulirwa, n'oteekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema. 02EXO040.006 And thou shalt set the altar of the burnt offering before the door of the tabernacle of the tent of the congregation. %%% Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'eweema ey'okusisinkanirangamu. 02EXO040.007 And thou shalt set the laver between the tent of the congregation and the altar, and shalt put water therein. %%% Era oliteeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okifukamu amazzi. 02EXO040.008 And thou shalt set up the court round about, and hang up the hanging at the court gate. %%% Era olisimba oluggya okwetooloola, n'otimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. 02EXO040.009 And thou shalt take the anointing oil, and anoint the tabernacle, and all that is therein, and shalt hallow it, and all the vessels thereof: and it shall be holy. %%% Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ofuka ku weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna: era eribeera entukuvu. 02EXO040.010 And thou shalt anoint the altar of the burnt offering, and all his vessels, and sanctify the altar: and it shall be an altar most holy. %%% Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto: n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 02EXO040.011 And thou shalt anoint the laver and his foot, and sanctify it. %%% Era oligafukako ku kinaabirwamu n'entobo yaakyo, n'okitukuza. 02EXO040.012 And thou shalt bring Aaron and his sons unto the door of the tabernacle of the congregation, and wash them with water. %%% Era olireeta Alooni n'abaana be ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi. 02EXO040.013 And thou shalt put upon Aaron the holy garments, and anoint him, and sanctify him; that he may minister unto me in the priest's office. %%% Era oliyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu; n'omufukako amafuta, n'omutukuza, ampeerereze mu bwakabona. 02EXO040.014 And thou shalt bring his sons, and clothe them with coats: %%% Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo: 02EXO040.015 And thou shalt anoint them, as thou didst anoint their father, that they may minister unto me in the priest's office: for their anointing shall surely be an everlasting priesthood throughout their generations. %%% n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna. 02EXO040.016 Thus did Moses: according to all that the LORD commanded him, so did he. %%% Musa n'akola bw'atyo: nga byonna Mukama bye yamulagira, bwe yakola bw'atyo. 02EXO040.017 And it came to pass in the first month in the second year, on the first day of the month, that the tabernacle was reared up. %%% Awo olwatuuka mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, eweema n'esimbibwa. 02EXO040.018 And Moses reared up the tabernacle, and fastened his sockets, and set up the boards thereof, and put in the bars thereof, and reared up his pillars. %%% Musa n'asimba eweema, n'ateekawo ebinnya byayo, n'ayimiriza embaawo zaayo, n'ayingiza emiti gyayo; n'awangiza empagi zaayo. 02EXO040.019 And he spread abroad the tent over the tabernacle, and put the covering of the tent above upon it; as the LORD commanded Moses. %%% N'atimba eweema ku nnyumba, n'agiteekako kungulu eky'okubikka ku weema; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO040.020 And he took and put the testimony into the ark, and set the staves on the ark, and put the mercy seat above upon the ark: %%% N'atwala obujulirwa n'abuteeka mu ssanduuko, n'assa emisituliro ku ssanduuko, n'ateeka entebe ey'okusaasira kungulu ku ssanduuko: 02EXO040.021 And he brought the ark into the tabernacle, and set up the vail of the covering, and covered the ark of the testimony; as the LORD commanded Moses. %%% n'ayingiza ssanduuko mu weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'akisa essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bye yalagira Musa. 02EXO040.022 And he put the table in the tent of the congregation, upon the side of the tabernacle northward, without the vail. %%% N'ateeka emmeeza mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa kkono, ebweru w'eggigi. 02EXO040.023 And he set the bread in order upon it before the LORD; as the LORD had commanded Moses. %%% N'agiteekateekako emigaati mu maaso ga Mukama: nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO040.024 And he put the candlestick in the tent of the congregation, over against the table, on the side of the tabernacle southward. %%% N'ateeka ekikondo mu weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'emmeeza, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo. 02EXO040.025 And he lighted the lamps before the LORD; as the LORD commanded Moses. %%% N'akoleeza ettabaaza mu maaso ga Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO040.026 And he put the golden altar in the tent of the congregation before the vail: %%% N'ateeka ekyoto ekya zaabu mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'eggigi: 02EXO040.027 And he burnt sweet incense thereon; as the LORD commanded Moses. %%% n'akyoterezaako obubaane obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO040.028 And he set up the hanging at the door of the tabernacle. %%% N'ateekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema. 02EXO040.029 And he put the altar of burnt offering by the door of the tabernacle of the tent of the congregation, and offered upon it the burnt offering and the meat offering; as the LORD commanded Moses. %%% N'ateeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo ku mulyango ogw'ennyumba ey'eweem ey'okusisinkanirangamu, n'akiwaako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta; nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO040.030 And he set the laver between the tent of the congregation and the altar, and put water there, to wash withal. %%% N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu. 02EXO040.031 And Moses and Aaron and his sons washed their hands and their feet thereat: %%% Musa ne Alooni n'abaana be ne bakinaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe; 02EXO040.032 When they went into the tent of the congregation, and when they came near unto the altar, they washed; as the LORD commanded Moses. %%% bwe baayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, baanaabanga: nga Mukama bwe yalagira Musa. 02EXO040.033 And he reared up the court round about the tabernacle and the altar, and set up the hanging of the court gate. So Moses finished the work. %%% N'asimba oluggya okwetooloola eweema n'ekyoto, n'atimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. Bw'atyo Musa n'amala omulimu. 02EXO040.034 Then a cloud covered the tent of the congregation, and the glory of the LORD filled the tabernacle. %%% Ekire ne kiryoka kibikka ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. 02EXO040.035 And Moses was not able to enter into the tent of the congregation, because the cloud abode thereon, and the glory of the LORD filled the tabernacle. %%% Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. 02EXO040.036 And when the cloud was taken up from over the tabernacle, the children of Israel went onward in all their journeys: %%% Era ekire bwe kyaggibwanga ku weema, abaana ba Isiraeri ne batambulanga, mu lugendo lwabwe lwonna: 02EXO040.037 But if the cloud were not taken up, then they journeyed not till the day that it was taken up. %%% naye ekire bwe kitaggibwangako, ne batatambulanga okutuusa ku lunaku lwe kyaggibwangako. 02EXO040.038 For the cloud of the LORD was upon the tabernacle by day, and fire was on it by night, in the sight of all the house of Israel, throughout all their journeys. %%% Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna. 03LEV001.001 And the LORD called unto Moses, and spake unto him out of the tabernacle of the congregation, saying, %%% Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti 03LEV001.002 Speak unto the children of Israel, and say unto them, If any man of you bring an offering unto the LORD, ye shall bring your offering of the cattle, even of the herd, and of the flock. %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Omuntu yenna ku mmwe bw'awangayo ekitone eri Mukama, munaakiwangayo okukiggya ku nsolo, ku nte ne ku mbuzi. 03LEV001.003 If his offering be a burnt sacrifice of the herd, let him offer a male without blemish: he shall offer it of his own voluntary will at the door of the tabernacle of the congregation before the LORD. %%% Oba ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema: anaagiweerangayo ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama. 03LEV001.004 And he shall put his hand upon the head of the burnt offering; and it shall be accepted for him to make atonement for him. %%% Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira. 03LEV001.005 And he shall kill the bullock before the LORD: and the priests, Aaron's sons, shall bring the blood, and sprinkle the blood round about upon the altar that is by the door of the tabernacle of the congregation. %%% Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, era banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV001.006 And he shall flay the burnt offering, and cut it into his pieces. %%% Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo. 03LEV001.007 And the sons of Aaron the priest shall put fire upon the altar, and lay the wood in order upon the fire%%% Awo abaana ba Alooni kabona banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro: 03LEV001.008 And the priests, Aaron's sons, shall lay the parts, the head, and the fat, in order upon the wood that is on the fire which is upon the altar: %%% awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto: 03LEV001.009 But his inwards and his legs shall he wash in water: and the priest shall burn all on the altar, to be a burnt sacrifice, an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaayokeranga byonna ku kyoto, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV001.010 And if his offering be of the flocks, namely, of the sheep, or of the goats, for a burnt sacrifice; he shall bring it a male without blemish. %%% Era oba ng'awaayo ku kisibo, kwe kugamba nti ku ndiga oba ku mbuzi, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; anaawangayo nnume eteriiko bulema. 03LEV001.011 And he shall kill it on the side of the altar northward before the LORD: and the priests, Aaron's sons, shall sprinkle his blood round about upon the altar. %%% Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiika obwa kkono mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV001.012 And he shall cut it into his pieces, with his head and his fat: and the priest shall lay them in order on the wood that is on the fire which is upon the altar: %%% Awo anaagisalangamu ebifi byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo: awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto: 03LEV001.013 But he shall wash the inwards and the legs with water: and the priest shall bring it all, and burn it upon the altar: it is a burnt sacrifice, an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaawangayo yonna, anaagyokeranga ku kyoto: kye kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV001.014 And if the burnt sacrifice for his offering to the LORD be of fowls, then he shall bring his offering of turtledoves, or of young pigeons. %%% Era oba ng'awaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukaamukuukulu oba amayiba amato. 03LEV001.015 And the priest shall bring it unto the altar, and wring off his head, and burn it on the altar; and the blood thereof shall be wrung out at the side of the altar: %%% Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto: 03LEV001.016 And he shall pluck away his crop with his feathers, and cast it beside the altar on the east part, by the place of the ashes: %%% awo anaggyangamu ekisakiro kyako awamu n'empitambi yaakyo, n'akisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu: 03LEV001.017 And he shall cleave it with the wings thereof, but shall not divide it asunder: and the priest shall burn it upon the altar, upon the wood that is upon the fire: it is a burnt sacrifice, an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% era anaakayuzanga n'ebiwaawaatiro byako, takasalangamu: awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV002.001 And when any will offer a meat offering unto the LORD, his offering shall be of fine flour; and he shall pour oil upon it, and put frankincense thereon: %%% Era omuntu yenna bw'awangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kinaabanga kya butta bulungi: era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu: 03LEV002.002 And he shall bring it to Aaron's sons the priests: and he shall take thereout his handful of the flour thereof, and of the oil thereof, with all the frankincense thereof; and the priest shall burn the memorial of it upon the altar, to be an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD: %%% awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona: naye anaakiggyangamu olubatu lwe olw'obutta obulungi bwakyo n'olw'amafuta gaakyo, awamu n'omugavu gwakyo gwonna; awo kabona anaabwokyanga okuba ekijjukizo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: 03LEV002.003 And the remnant of the meat offering shall be Aaron's and his sons': it is a thing most holy of the offerings of the LORD made by fire. %%% n'ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro. 03LEV002.004 And if thou bring an oblation of a meat offering baken in the oven, it shall be unleavened cakes of fine flour mingled with oil, or unleavened wafers anointed with oil. %%% Era bw'owangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga emigaati egitazimbulukuswa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibwako amafuta. 03LEV002.005 And if thy oblation be a meat offering baken in a pan, it shall be of fine flour unleavened, mingled with oil. %%% Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta. 03LEV002.006 Thou shalt part it in pieces, and pour oil thereon: it is a meat offering. %%% Onookyawulangamu ebitundu, obufukeko amafuta: kye kiweebwayo eky'obutta. 03LEV002.007 And if thy oblation be a meat offering baken in the fryingpan, it shall be made of fine flour with oil. %%% Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaakolebwanga n'obutta obulungi wamu n'amafuta. 03LEV002.008 And thou shalt bring the meat offering that is made of these things unto the LORD: and when it is presented unto the priest, he shall bring it unto the altar. %%% Awo onooleetanga ekiweebwayo eky'obutta ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kinaaleeterwanga kabona, naye anaakitwalanga eri ekyoto. 03LEV002.009 And the priest shall take from the meat offering a memorial thereof, and shall burn it upon the altar: it is an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% Awo kabona anaalobolanga ku kiweebwayo eky'obutta ekijjukizo kyakyo, anaakyokeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV002.010 And that which is left of the meat offering shall be Aaron's and his sons': it is a thing most holy of the offerings of the LORD made by fire. %%% N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro. 03LEV002.011 No meat offering, which ye shall bring unto the LORD, shall be made with leaven: for ye shall burn no leaven, nor any honey, in any offering of the LORD made by fire. %%% Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusa: kubanga temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV002.012 As for the oblation of the firstfruits, ye shall offer them unto the LORD: but they shall not be burnt on the altar for a sweet savour. %%% Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ekitone eky'ebibereberye: naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi. 03LEV002.013 And every oblation of thy meat offering shalt thou season with salt; neither shalt thou suffer the salt of the covenant of thy God to be lacking from thy meat offering: with all thine offerings thou shalt offer salt. %%% Era buli kitone eky'obutta bw'onoowangayo onookirungangamu omunnyo; so tokkirizanga ky'owaayo eky'obutta okubulwa omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonna onoowangayo omunnyo. 03LEV002.014 And if thou offer a meat offering of thy firstfruits unto the LORD, thou shalt offer for the meat offering of thy firstfruits green ears of corn dried by the fire, even corn beaten out of full ears. %%% Era oba ng'owaayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo okuba ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye byo eŋŋaano ng'ekyali ku birimba eyokebwa n'omuliro, eŋŋaano embetentere ku birimba ebibisi. 03LEV002.015 And thou shalt put oil upon it, and lay frankincense thereon: it is a meat offering. %%% Awo onoogifukangako amafuta, era onoogiteekangako omugavu: ekyo kye kiweebwayo eky'obutta. 03LEV002.016 And the priest shall burn the memorial of it, part of the beaten corn thereof, and part of the oil thereof, with all the frankincense thereof: it is an offering made by fire unto the LORD. %%% Era kabona anaayokyanga ekijjukizo kyakyo, ekitundu ky'eŋŋano yaakyo embetente, n'ekitundu ky'amafuta gaakyo, wamu n'omugavu gwakyo gwonna:kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV003.001 And if his oblation be a sacrifice of peace offering, if he offer it of the herd; whether it be a male or female, he shall offer it without blemish before the LORD. %%% Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; bw'anaawangayo ku nte, oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama. 03LEV003.002 And he shall lay his hand upon the head of his offering, and kill it at the door of the tabernacle of the congregation: and Aaron's sons the priests shall sprinkle the blood upon the altar round about. %%% Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo gy'awaayo, n'agittira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV003.003 And he shall offer of the sacrifice of the peace offering an offering made by fire unto the LORD; the fat that covereth the inwards, and all the fat that is upon the inwards, %%% Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda, 03LEV003.004 And the two kidneys, and the fat that is on them, which is by the flanks, and the caul above the liver, with the kidneys, it shall he take away. %%% n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekiserige ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 03LEV003.005 And Aaron's sons shall burn it on the altar upon the burnt sacrifice, which is upon the wood that is on the fire: it is an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% Awo abaana ba Alooni banaagookeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV003.006 And if his offering for a sacrifice of peace offering unto the LORD be of the flock; male or female, he shall offer it without blemish. %%% Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema. 03LEV003.007 If he offer a lamb for his offering, then shall he offer it before the LORD. %%% Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekitone kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama: 03LEV003.008 And he shall lay his hand upon the head of his offering, and kill it before the tabernacle of the congregation: and Aaron's sons shall sprinkle the blood thereof round about upon the altar. %%% awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekitone kye, n'agittiranga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV003.009 And he shall offer of the sacrifice of the peace offering an offering made by fire unto the LORD; the fat thereof, and the whole rump, it shall he take off hard by the backbone; and the fat that covereth the inwards, and all the fat that is upon the inwards, %%% Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu gaayo, omukira ogwa ssava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo; n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 03LEV003.010 And the two kidneys, and the fat that is upon them, which is by the flanks, and the caul above the liver, with the kidneys, it shall he take away. %%% n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 03LEV003.011 And the priest shall burn it upon the altar: it is the food of the offering made by fire unto the LORD. %%% Awo kabona anaagookeranga ku kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV003.012 And if his offering be a goat, then he shall offer it before the LORD. %%% Era oba ng'awaayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama: 03LEV003.013 And he shall lay his hand upon the head of it, and kill it before the tabernacle of the congregation: and the sons of Aaron shall sprinkle the blood thereof upon the altar round about. %%% awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV003.014 And he shall offer thereof his offering, even an offering made by fire unto the LORD; the fat that covereth the inwards, and all the fat that is upon the inwards. %%% Awo anaawangayo ku yo ekitone kye, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 03LEV003.015 And the two kidneys, and the fat that is upon them, which is by the flanks, and the caul above the liver, with the kidneys, it shall he take away. %%% n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 03LEV003.016 And the priest shall burn them upon the altar: it is the food of the offering made by fire for a sweet savour: all the fat is the LORD's. %%% Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto: kye ky'okulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro olw'evvumbe eddungi: amasavu gonna ga Mukama. 03LEV003.017 It shall be a perpetual statute for your generations throughout all your dwellings, that ye eat neither fat nor blood. %%% Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi. 03LEV004.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti 03LEV004.002 Speak unto the children of Israel, saying, If a soul shall sin through ignorance against any of the commandments of the LORD concerning things which ought not to be done, and shall do against any of them: %%% Buulira abaana ba Isiraeri ng'oyogera nti Omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo: 03LEV004.003 If the priest that is anointed do sin according to the sin of the people; then let him bring for his sin, which he hath sinned, a young bullock without blemish unto the LORD for a sin offering. %%% kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; awo awengayo olw'ekibi kye ky'ayonoonye ente ennume envubuka eteriiko bulema eri Mukama okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 03LEV004.004 And he shall bring the bullock unto the door of the tabernacle of the congregation before the LORD; and shall lay his hand upon the bullock's head, and kill the bullock before the LORD. %%% Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'attira ente mu maaso ga Mukama. 03LEV004.005 And the priest that is anointed shall take of the bullock's blood, and bring it to the tabernacle of the congregation: %%% Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri eweema ey'okusisinkanirangamu: 03LEV004.006 And the priest shall dip his finger in the blood, and sprinkle of the blood seven times before the LORD, before the vail of the sanctuary. %%% awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'amansira ku musaayi emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi ly'awatukuvu. 03LEV004.007 And the priest shall put some of the blood upon the horns of the altar of sweet incense before the LORD, which is in the tabernacle of the congregation; and shall pour all the blood of the bullock at the bottom of the altar of the burnt offering, which is at the door of the tabernacle of the congregation. %%% Awo kabona anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogw'ente anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV004.008 And he shall take off from it all the fat of the bullock for the sin offering; the fat that covereth the inwards, and all the fat that is upon the inwards, %%% N'amasavu gonna ag'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi anagiggyangako; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 03LEV004.009 And the two kidneys, and the fat that is upon them, which is by the flanks, and the caul above the liver, with the kidneys, it shall he take away, %%% n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anabiggyangako, 03LEV004.010 As it was taken off from the bullock of the sacrifice of peace offerings: and the priest shall burn them upon the altar of the burnt offering. %%% nga bwe gaggibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa. 03LEV004.011 And the skin of the bullock, and all his flesh, with his head, and with his legs, and his inwards, and his dung, %%% N'eddiba ly'ente, n'ennyama yaayo yonna, wamu n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo, 03LEV004.012 Even the whole bullock shall he carry forth without the camp unto a clean place, where the ashes are poured out, and burn him on the wood with fire: where the ashes are poured out shall he be burnt. %%% ente yonna anaagitwalanga ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu, ewu we lifukwa, agyokyenga n'omuliro ku nku: evvu we lifukwa eyo gy'eneeyokerwanga. 03LEV004.013 And if the whole congregation of Israel sin through ignorance, and the thing be hid from the eyes of the assembly, and they have done somewhat against any of the commandments of the LORD concerning things which should not be done, and are guilty; %%% Era oba ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaasobyanga, ekigambo ne kikwekebwa mu maaso g'ekibiina, era nga bakoze ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era nga bazzizza omusango; 03LEV004.014 When the sin, which they have sinned against it, is known, then the congregation shall offer a young bullock for the sin, and bring him before the tabernacle of the congregation. %%% ekibi kye boonoonye bwe kinaamanyibwanga, awo ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ne bagireetanga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV004.015 And the elders of the congregation shall lay their hands upon the head of the bullock before the LORD: and the bullock shall be killed before the LORD. %%% Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama: ne battira ente mu maaso ga Mukama. 03LEV004.016 And the priest that is anointed shall bring of the bullock's blood to the tabernacle of the congregation: %%% Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente eri eweema ey'okusisinkanirangamu: 03LEV004.017 And the priest shall dip his finger in some of the blood, and sprinkle it seven times before the LORD, even before the vail. %%% awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi. 03LEV004.018 And he shall put some of the blood upon the horns of the altar which is before the LORD, that is in the tabernacle of the congregation, and shall pour out all the blood at the bottom of the altar of the burnt offering, which is at the door of the tabernacle of the congregation. %%% Awo anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'omusaayi gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV004.019 And he shall take all his fat from him, and burn it upon the altar. %%% N'amasavu gaayo gonna anaagagiggyangako, n'agookera ku kyoto. 03LEV004.020 And he shall do with the bullock as he did with the bullock for a sin offering, so shall he do with this: and the priest shall make an atonement for them, and it shall be forgiven them. %%% Bw'atyo bw'anaakolanga ente; nga bwe yakola ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, bw'atyo bw'anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa. 03LEV004.021 And he shall carry forth the bullock without the camp, and burn him as he burned the first bullock: it is a sin offering for the congregation. %%% Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente ey'olubereberye: kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina. 03LEV004.022 When a ruler hath sinned, and done somewhat through ignorance against any of the commandments of the LORD his God concerning things which should not be done, and is guilty; %%% Omukulu yenna bw'ayonoonanga, n'akola nga tamanyiridde ekigambo kyonna kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango; 03LEV004.023 Or if his sin, wherein he hath sinned, come to his knowledge; he shall bring his offering, a kid of the goats, a male without blemish: %%% ekibi ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, ennume eteriiko bulema; 03LEV004.024 And he shall lay his hand upon the head of the goat, and kill it in the place where they kill the burnt offering before the LORD: it is a sin offering. %%% awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo olw'ekibi. 03LEV004.025 And the priest shall take of the blood of the sin offering with his finger, and put it upon the horns of the altar of burnt offering, and shall pour out his blood at the bottom of the altar of burnt offering. %%% Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa. 03LEV004.026 And he shall burn all his fat upon the altar, as the fat of the sacrifice of peace offerings: and the priest shall make an atonement for him as concerning his sin, and it shall be forgiven him. %%% N'amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasoyiyibwanga. 03LEV004.027 And if any one of the common people sin through ignorance, while he doeth somewhat against any of the commandments of the LORD concerning things which ought not to be done, and be guilty; %%% Era oba ng'omuntu yenna ku bantu ab'omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango; 03LEV004.028 Or if his sin, which he hath sinned, come to his knowledge: then he shall bring his offering, a kid of the goats, a female without blemish, for his sin which he hath sinned. %%% ekibi kye ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, awo anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, enkazi eteriiko bulema, olw'ekibi ky'ayonoonye. 03LEV004.029 And he shall lay his hand upon the head of the sin offering, and slay the sin offering in the place of the burnt offering. %%% Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa. 03LEV004.030 And the priest shall take of the blood thereof with his finger, and put it upon the horns of the altar of burnt offering, and shall pour out all the blood thereof at the bottom of the altar. %%% Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto. 03LEV004.031 And he shall take away all the fat thereof, as the fat is taken away from off the sacrifice of peace offerings; and the priest shall burn it upon the altar for a sweet savour unto the LORD; and the priest shall make an atonement for him, and it shall be forgiven him. %%% N'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; era kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga. 03LEV004.032 And if he bring a lamb for a sin offering, he shall bring it a female without blemish. %%% Era oba ng'aleeta omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga enkazi eteriiko bulema. 03LEV004.033 And he shall lay his hand upon the head of the sin offering, and slay it for a sin offering in the place where they kill the burnt offering. %%% Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa. 03LEV004.034 And the priest shall take of the blood of the sin offering with his finger, and put it upon the horns of the altar of burnt offering, and shall pour out all the blood thereof at the bottom of the altar: %%% Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto: 03LEV004.035 And he shall take away all the fat thereof, as the fat of the lamb is taken away from the sacrifice of the peace offerings; and the priest shall burn them upon the altar, according to the offerings made by fire unto the LORD: and the priest shall make an atonement for his sin that he hath committed, and it shall be forgiven him. %%% n'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona annabyokeranga ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga. 03LEV005.001 Era oba ng'omuntu yenna ayonoona, ng'awulira eddoboozi ery'okulayiza, oba nga mujulirwa, oba nga yalaba oba nga yamanya, bw'ataakyogerenga, kale anaabangako obubi bwe: 03LEV005.002 era oba ng'omuntu yenna akoma ku kintu ekitali kirongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nsiko eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nnyumba eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ebyewalula ebitali birongoofu, naye ng'akwekeddwa; n'aba atali mulongoofu, kale ng'aliko omusango: 03LEV005.003 era oba ng'akoma ku butali bulongoofu bw'omuntu bwonna bwonna obumufuula atali mulongoofu, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango: 03LEV005.004 era oba ng'omuntu yenna alayira mangu n'emimwa gye okukola obubi, oba okukola obulungi, ekintu kyonna omuntu ky'anaayogeranga amangu n'ekirayiro, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango mu kimu ku bigambo ebyo: 03LEV005.005 awo olulituuka bw'anaabangako omusango mu kimu ku ebyo, kale anaayatulanga ekigambo kye yayonoona: 03LEV005.006 awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibi ky'ayonoonye, enkazi ey'omu kisibo, omwana gw'endiga oba mbuzi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye. 03LEV005.007 Era oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga eri Mukama okuba ekyo ky'awaayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonoonye, bukamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; akamu ka kiweebwayo kya kibi, ak'okubiri ka kiweebwayo ekyokebwa. 03LEV005.008 Awo anaabuleetanga eri kabona, naye anaasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibi, n'anyoola omutwe gwako ku bulago bwako, naye n'atakasalamu: 03LEV005.009 awo anaamansiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi ku mabbali g'ekyoto; n'omusaayi gwonna ogusigaddewo gunaatonnyezebwanga ku ntobo y'ekyoto: kye kiweebwayo olw'ekibi. 03LEV005.010 Era anaawangayo ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ng'ekiragiro bwe kiri: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga. 03LEV005.011 Naye oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza bukaamukuukulu bubiri, newakubadde amayiba amato abiri, kale anaaleetanga okuba ekitone kye olw'ekigambo ky'ayonoonye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi; tateekangako mafuta, so tateekangako mugavu: kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi. 03LEV005.012 Awo anaabuleetanga eri kabona, kabona n'abutoolako olubatu lwe okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kye kiweebwayo olw'ekibi. 03LEV005.013 Ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye mu bigambo ebyo byonna, naye anaasonyiyibwanga: n'ekitundu ekinaafikkangawo kinaabanga kya kabona, ng'ekiweebwayo eky'obutta. 03LEV005.014 Mukama n'agamba Musa nti 03LEV005.015 Omuntu yenna bw'asobyanga, n'ayonoona nga tamanyiridde mu bigambo ebitukuvu ebya Mukama; kale anaaleetanga eri Mukama ekyo ky'awaayo olw'omusango, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosaliranga ffeeza mu sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, okuba ekiweebwayo, olw'omusango: 03LEV005.016 era anaagattanga olw'ekigambo ky'asobezza mu kigambo ekitukuvu era anaakyongerangako ekitundu eky'ekkumi, n'akiwa kabona: ne kabona anaamutangiriranga n'endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango, naye anaasonyiyibwanga. 03LEV005.017 Era omuntu yenna bw'anaayonoonanga, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga; newakubadde nga yali takimanyi, naye ng'aliko omusango, era anaabangako obubi bwe. 03LEV005.018 Awo anaatoolanga endiga ennume eteriiko bulema ng'agiggya mu ndiga ze, nga bw'onoosalanga, okuba ekiweebwayo olw'omusango n'agireeta eri kabona: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekigambo kye yasobya nga tamanyiridde n'atakitegeera, naye anaasonyiyibwanga. 03LEV005.019 Kye kiweebwayo olw'omusango: mazima ng'aliko omusango mu maaso ga Mukama. 03LEV006.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV006.002 If a soul sin, and commit a trespass against the LORD, and lie unto his neighbour in that which was delivered him to keep, or in fellowship, or in a thing taken away by violence, or hath deceived his neighbour; %%% Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu bigambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we; 03LEV006.003 Or have found that which was lost, and lieth concerning it, and sweareth falsely; in any of all these that a man doeth, sinning therein: %%% oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo; 03LEV006.004 Then it shall be, because he hath sinned, and is guilty, that he shall restore that which he took violently away, or the thing which he hath deceitfully gotten, or that which was delivered him to keep, or the lost thing which he found, %%% kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula 03LEV006.005 Or all that about which he hath sworn falsely; he shall even restore it in the principal, and shall add the fifth part more thereto, and give it unto him to whom it appertaineth, in the day of his trespass offering. %%% oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango. 03LEV006.006 And he shall bring his trespass offering unto the LORD, a ram without blemish out of the flock, with thy estimation, for a trespass offering, unto the priest: %%% Era anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusaago, eri kabona: 03LEV006.007 And the priest shall make an atonement for him before the LORD: and it shall be forgiven him for any thing of all that he hath done in trespassing therein. %%% ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu bigambo byonna bye yali akoze ebimuleetako omusango. 03LEV006.008 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV006.009 Command Aaron and his sons, saying, This is the law of the burnt offering: It is the burnt offering, because of the burning upon the altar all night unto the morning, and the fire of the altar shall be burning in it. %%% Lagira Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga. 03LEV006.010 And the priest shall put on his linen garment, and his linen breeches shall he put upon his flesh, and take up the ashes which the fire hath consumed with the burnt offering on the altar, and he shall put them beside the altar. %%% Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto. 03LEV006.011 And he shall put off his garments, and put on other garments, and carry forth the ashes without the camp unto a clean place. %%% Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu. 03LEV006.012 And the fire upon the altar shall be burning in it; it shall not be put out: and the priest shall burn wood on it every morning, and lay the burnt offering in order upon it; and he shall burn thereon the fat of the peace offerings. %%% Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe. 03LEV006.013 The fire shall ever be burning upon the altar; it shall never go out. %%% Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto lutata; teguzikiranga. 03LEV006.014 And this is the law of the meat offering: the sons of Aaron shall offer it before the LORD, before the altar. %%% Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiwecrangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto. 03LEV006.015 And he shall take of it his handful, of the flour of the meat offering, and of the oil thereof, and all the frankincense which is upon the meat offering, and shall burn it upon the altar for a sweet savour, even the memorial of it, unto the LORD. %%% Era anaakitoolangako olubatu lwe, ku butta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, ne ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonna oguli ku kiweebwayo eky'obutta, n'akyokera ku kyoto okuba evvumbe eddungi, okuba ekijjukizo kyakyo eri Mukama. 03LEV006.016 And the remainder thereof shall Aaron and his sons eat: with unleavened bread shall it be eaten in the holy place; in the court of the tabernacle of the congregation they shall eat it. %%% N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuvu; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu mwe banaakiriiranga. 03LEV006.017 It shall not be baken with leaven. I have given it unto them for their portion of my offerings made by fire; it is most holy, as is the sin offering, and as the trespass offering. %%% Tekyokebwanga n'ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango. 03LEV006.018 All the males among the children of Aaron shall eat of it. It shall be a statute for ever in your generations concerning the offerings of the LORD made by fire: every one that toucheth them shall be holy. %%% Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu. 03LEV006.019 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV006.020 This is the offering of Aaron and of his sons, which they shall offer unto the LORD in the day when he is anointed; the tenth part of an ephah of fine flour for a meat offering perpetual, half of it in the morning, and half thereof at night. %%% Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi. 03LEV006.021 In a pan it shall be made with oil; and when it is baken, thou shalt bring it in: and the baken pieces of the meat offering shalt thou offer for a sweet savour unto the LORD. %%% Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalanga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV006.022 And the priest of his sons that is anointed in his stead shall offer it: it is a statute for ever unto the LORD; it shall be wholly burnt. %%% Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonna eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna. 03LEV006.023 For every meat offering for the priest shall be wholly burnt: it shall not be eaten. %%% Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga. 03LEV006.024 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV006.025 Speak unto Aaron and to his sons, saying, This is the law of the sin offering: In the place where the burnt offering is killed shall the sin offering be killed before the LORD: it is most holy. %%% Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo. 03LEV006.026 The priest that offereth it for sin shall eat it: in the holy place shall it be eaten, in the court of the tabernacle of the congregation. %%% Kabona akiwaayo olw'ekibi y'aaaakiryanga: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV006.027 Whatsoever shall touch the flesh thereof shall be holy: and when there is sprinkled of the blood thereof upon any garment, thou shalt wash that whereon it was sprinkled in the holy place. %%% Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu. 03LEV006.028 But the earthen vessel wherein it is sodden shall be broken: and if it be sodden in a brasen pot, it shall be both scoured, and rinsed in water. %%% Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi. 03LEV006.029 All the males among the priests shall eat thereof: it is most holy. %%% Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kye kitukuvu ennyo. 03LEV006.030 And no sin offering, whereof any of the blood is brought into the tabernacle of the congregation to reconcile withal in the holy place, shall be eaten: it shall be burnt in the fire. %%% So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro. 03LEV007.001 Likewise this is the law of the trespass offering: it is most holy. %%% Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: kye kitukuvu ennyo. 03LEV007.002 In the place where they kill the burnt offering shall they kill the trespass offering: and the blood thereof shall he sprinkle round about upon the altar. %%% Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango: n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV007.003 And he shall offer of it all the fat thereof; the rump, and the fat that covereth the inwards, %%% Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda 03LEV007.004 And the two kidneys, and the fat that is on them, which is by the flanks, and the caul that is above the liver, with the kidneys, it shall he take away: %%% n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana n'ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako: 03LEV007.005 And the priest shall burn them upon the altar for an offering made by fire unto the LORD: it is a trespass offering. %%% awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango. 03LEV007.006 Every male among the priests shall eat thereof: it shall be eaten in the holy place: it is most holy. %%% Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu: kye kitukuvu ennyo. 03LEV007.007 As the sin offering is, so is the trespass offering: there is one law for them: the priest that maketh atonement therewith shall have it. %%% Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: etteeka lyabyo limu: kabona annakitangirizanga y'anaabanga nakyo. 03LEV007.008 And the priest that offereth any man's burnt offering, even the priest shall have to himself the skin of the burnt offering which he hath offered. %%% Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, kabona oyo y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo. 03LEV007.009 And all the meat offering that is baken in the oven, and all that is dressed in the fryingpan, and in the pan, shall be the priest's that offereth it. %%% Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo. 03LEV007.010 And every meat offering, mingled with oil, and dry, shall all the sons of Aaron have, one as much as another. %%% Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabulwamu amafuta oba kikalu, abaana ba Alooni bonna banaabanga nakyo, buli muntu okwenkana ne munne. 03LEV007.011 And this is the law of the sacrifice of peace offerings, which he shall offer unto the LORD. %%% Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe omuntu by'anaawangayo eri Mukama 03LEV007.012 If he offer it for a thanksgiving, then he shall offer with the sacrifice of thanksgiving unleavened cakes mingled with oil, and unleavened wafers anointed with oil, and cakes mingled with oil, of fine flour, fried. %%% Oba ng'agiwaayo olw'okwebaza, kale anaaweerangayo wa mu ne ssaddaaka ey'okwebaza emigaati egitazimbulukuswa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta, n'emigaati egitabudwamu amafuta, egy'obutta obulungi obunnyikidde. 03LEV007.013 Besides the cakes, he shall offer for his offering leavened bread with the sacrifice of thanksgiving of his peace offerings. %%% Awamu n'emigaati egizimbulukuswa bw'anaawangayo ky'awaayo wamu ne ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe olw'okwebaza. 03LEV007.014 And of it he shall offer one out of the whole oblation for an heave offering unto the LORD, and it shall be the priest's that sprinkleth the blood of the peace offerings. %%% Era ku yo anaawangayo gumu ku buli kitone okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe. 03LEV007.015 And the flesh of the sacrifice of his peace offerings for thanksgiving shall be eaten the same day that it is offered; he shall not leave any of it until the morning. %%% Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya. 03LEV007.016 But if the sacrifice of his offering be a vow, or a voluntary offering, it shall be eaten the same day that he offereth his sacrifice: and on the morrow also the remainder of it shall be eaten: %%% Naye oba nga ssaddaaka gy'awaayo bweyamo, oba gy'awaayo ku bubwe, enerriibwanga ku lunaku lw'aweerako saddaaka ye: n'enkya ekinaafikkangako kinaaliibwanga; 03LEV007.017 But the remainder of the flesh of the sacrifice on the third day shall be burnt with fire. %%% naye ekinaafikkanga ku nnyama eya ssaddaaka ku lunaku olw'okusatu kinaayokebwanga n'omuliro. 03LEV007.018 And if any of the flesh of the sacrifice of his peace offerings be eaten at all on the third day, it shall not be accepted, neither shall it be imputed unto him that offereth it: it shall be an abomination, and the soul that eateth of it shall bear his iniquity. %%% Era oba ng'ennyama yonna eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eneeiibwanga ku lunaku olw'okusatu, tekkirizibwenga, so teemubalirwenga oyo agiwaayo: eneebanga ya muzizo, n'omwoyo ogunaagiryangako gunaabangako obubi bwe. 03LEV007.019 And the flesh that toucheth any unclean thing shall not be eaten; it shall be burnt with fire: and as for the flesh, all that be clean shall eat thereof. %%% Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwanga; eneeyokebwanga n'omuliro. N'ennyama eyo, buli mulongoofu anaagiryangako: 03LEV007.020 But the soul that eateth of the flesh of the sacrifice of peace offerings, that pertain unto the LORD, having his uncleanness upon him, even that soul shall be cut off from his people. %%% naye omwoyo ogunaalyanga ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 03LEV007.021 Moreover the soul that shall touch any unclean thing, as the uncleanness of man, or any unclean beast, or any abominable unclean thing, and eat of the flesh of the sacrifice of peace offerings, which pertain unto the LORD, even that soul shall be cut off from his people. %%% Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu ekitali kirongoofu, obutali bulongoofu bw'omuntu, oba ensolo eteri nnongoofu, oba eky'omuzizo kyonna ekitali kirongoofu, n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 03LEV007.022 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV007.023 Speak unto the children of Israel, saying, Ye shall eat no manner of fat, of ox, or of sheep, or of goat. %%% Gamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku masavu, ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi. 03LEV007.024 And the fat of the beast that dieth of itself, and the fat of that which is torn with beasts, may be used in any other use: but ye shall in no wise eat of it. %%% N'amasavu g'eyo efa yokka n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo ganaabanga ga mirimu mirala gyonna: naye okulya temugalyangako n'akatono, 03LEV007.025 For whosoever eateth the fat of the beast, of which men offer an offering made by fire unto the LORD, even the soul that eateth it shall be cut off from his people. %%% Kubanga buli alya ku masavu g'ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, omwoyo ogwo ogunaagalyangako gunaazikirizibwanga mu bantu be. 03LEV007.026 Moreover ye shall eat no manner of blood, whether it be of fowl or of beast, in any of your dwellings. %%% So temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, bwe guba ogw'ennyonyi newakubadde ogw'ensolo, mu nnyumba zammwe zonna. 03LEV007.027 Whatsoever soul it be that eateth any manner of blood, even that soul shall be cut off from his people. %%% Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 03LEV007.028 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV007.029 Speak unto the children of Israel, saying, He that offereth the sacrifice of his peace offerings unto the LORD shall bring his oblation unto the LORD of the sacrifice of his peace offerings. %%% Gamba abaana ba Isiraeri nti Awaayo ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekitone kye eri Mukama ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe: 03LEV007.030 His own hands shall bring the offerings of the LORD made by fire, the fat with the breast, it shall he bring, that the breast may be waved for a wave offering before the LORD. %%% engalo ze yennyini zinaaleetanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; amasavu n'ekifuba anaabireetanga, ekifuba kiwuubibwewuubibwenga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 03LEV007.031 And the priest shall burn the fat upon the altar: but the breast shall be Aaron's and his sons'. %%% Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto: naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be. 03LEV007.032 And the right shoulder shall ye give unto the priest for an heave offering of the sacrifices of your peace offerings. %%% N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe. 03LEV007.033 He among the sons of Aaron, that offereth the blood of the peace offerings, and the fat, shall have the right shoulder for his part. %%% Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaabanga n'ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe. 03LEV007.034 For the wave breast and the heave shoulder have I taken of the children of Israel from off the sacrifices of their peace offerings, and have given them unto Aaron the priest and unto his sons by a statute for ever from among the children of Israel. %%% Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nziye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, n'embiwa Alooni kabona n'abaana be, okuba ebbanja emirembe gyonna eri abaana ba Isiraeri. 03LEV007.035 This is the portion of the anointing of Aaron, and of the anointing of his sons, out of the offerings of the LORD made by fire, in the day when he presented them to minister unto the LORD in the priest's office; %%% Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, ku lunaku lwe yabaleeterako okuweereza Mukama mu bwakabona; 03LEV007.036 Which the LORD commanded to be given them of the children of Israel, in the day that he anointed them, by a statute for ever throughout their generations. %%% Mukama gwe yalagira okubawanga abaana ba Isiraeri; ku lunaku lwe yabafukirako amafuta. Linaabanga bbanja ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna. 03LEV007.037 This is the law of the burnt offering, of the meat offering, and of the sin offering, and of the trespass offering, and of the consecrations, and of the sacrifice of the peace offerings; %%% Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango; n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; 03LEV007.038 Which the LORD commanded Moses in mount Sinai, in the day that he commanded the children of Israel to offer their oblations unto the LORD, in the wilderness of Sinai. %%% Mukama lye yalagira Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku kwe yalagirira abaana ba Isiraeri okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama mu ddungu lya Sinaayi. 03LEV008.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV008.002 Take Aaron and his sons with him, and the garments, and the anointing oil, and a bullock for the sin offering, and two rams, and a basket of unleavened bread; %%% Twala Alooni n'abaana be awamu naye, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okufukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu amigaati egitazimbulukuswa; 03LEV008.003 And gather thou all the congregation together unto the door of the tabernacle of the congregation. %%% okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV008.004 And Moses did as the LORD commanded him; and the assembly was gathered together unto the door of the tabernacle of the congregation. %%% Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV008.005 And Moses said unto the congregation, This is the thing which the LORD commanded to be done. %%% Musa n'agamba ekibiina nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola. 03LEV008.006 And Moses brought Aaron and his sons, and washed them with water. %%% Musa n'aleeta Alooni n'abaaaa be, n'abanaaza n'amazzi. 03LEV008.007 And he put upon him the coat, and girded him with the girdle, and clothed him with the robe, and put the ephod upon him, and he girded him with the curious girdle of the ephod, and bound it unto him therewith. %%% N'amwambaza ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olwo. 03LEV008.008 And he put the breastplate upon him: also he put in the breastplate the Urim and the Thummim. %%% N'amussaako eky'oku kifuba: ne mu ky'oku kifuba yateeka Ulimu ne Sumimu. 03LEV008.009 And he put the mitre upon his head; also upon the mitre, even upon his forefront, did he put the golden plate, the holy crown; as the LORD commanded Moses. %%% N'amutikkira enkuufiira ku mutwe; ne ku nkuufiira, mu maaso gaayo, n'assaako ekipande ekya zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV008.010 And Moses took the anointing oil, and anointed the tabernacle and all that was therein, and sanctified them. %%% Musa n'addira amafuta ag'okufukako, n'agafuka ku weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza. 03LEV008.011 And he sprinkled thereof upon the altar seven times, and anointed the altar and all his vessels, both the laver and his foot, to sanctify them. %%% N'amansirako ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukuza. 03LEV008.012 And he poured of the anointing oil upon Aaron's head, and anointed him, to sanctify him. %%% N'afuka ku mafuta ag'okufukako ku mutwe gwa Alooni, n'amufukako amafuta, okumutukuza. 03LEV008.013 And Moses brought Aaron's sons, and put coats upon them, and girded them with girdles, and put bonnets upon them; as the LORD commanded Moses. %%% Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV008.014 And he brought the bullock for the sin offering: and Aaron and his sons laid their hands upon the head of the bullock for the sin offering. %%% N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi. 03LEV008.015 And he slew it; and Moses took the blood, and put it upon the horns of the altar round about with his finger, and purified the altar, and poured the blood at the bottom of the altar, and sanctified it, to make reconciliation upon it. %%% N'agitta: Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna n'engalo ye, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukuza, okukitangirira. 03LEV008.016 And he took all the fat that was upon the inwards, and the caul above the liver, and the two kidneys, and their fat, and Moses burned it upon the altar. %%% N'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, Musa n'agookera ku kyoto. 03LEV008.017 But the bullock, and his hide, his flesh, and his dung, he burnt with fire without the camp; as the LORD commanded Moses. %%% Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV008.018 And he brought the ram for the burnt offering: and Aaron and his sons laid their hands upon the head of the ram. %%% N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 03LEV008.019 And he killed it; and Moses sprinkled the blood upon the altar round about. %%% N'agitta: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV008.020 And he cut the ram into pieces; and Moses burnt the head, and the pieces, and the fat. %%% N'asala mu ndiga ebitundu, byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu. 03LEV008.021 And he washed the inwards and the legs in water; and Moses burnt the whole ram upon the altar: it was a burnt sacrifice for a sweet savour, and an offering made by fire unto the LORD; as the LORD commanded Moses. %%% N'anaaza ebyenda n'amagulu n'amazzi Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto: yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV008.022 And he brought the other ram, the ram of consecration: and Aaron and his sons laid their hands upon the head of the ram. %%% N'aleeta endiga ennume ey'okubiri, endiga ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 03LEV008.023 And he slew it; and Moses took of the blood of it, and put it upon the tip of Aaron's right ear, and upon the thumb of his right hand, and upon the great toe of his right foot. %%% N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo, 03LEV008.024 And he brought Aaron's sons, and Moses put of the blood upon the tip of their right ear, and upon the thumbs of their right hands, and upon the great toes of their right feet: and Moses sprinkled the blood upon the altar round about. %%% N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV008.025 And he took the fat, and the rump, and all the fat that was upon the inwards, and the caul above the liver, and the two kidneys, and their fat, and the right shoulder: %%% N'addira amasavu, n'omukira ogwa ssava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo: 03LEV008.026 And out of the basket of unleavened bread, that was before the LORD, he took one unleavened cake, and a cake of oiled bread, and one wafer, and put them on the fat, and upon the right shoulder: %%% ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukuswa ekyali mu maaso ga Mukama n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo: 03LEV008.027 And he put all upon Aaron's hands, and upon his sons' hands, and waved them for a wave offering before the LORD. %%% n'ateeka byonna mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 03LEV008.028 And Moses took them from off their hands, and burnt them on the altar upon the burnt offering: they were consecrations for a sweet savour: it is an offering made by fire unto the LORD. %%% Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa: byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi: byali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV008.029 And Moses took the breast, and waved it for a wave offering before the LORD: for of the ram of consecration it was Moses' part; as the LORD commanded Moses. %%% Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV008.030 And Moses took of the anointing oil, and of the blood which was upon the altar, and sprinkled it upon Aaron, and upon his garments, and upon his sons, and upon his sons' garments with him; and sanctified Aaron, and his garments, and his sons, and his sons' garments with him. %%% Musa n'atoola ku mafuta ag'okufukako, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be awamu naye; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be awamu naye. 03LEV008.031 And Moses said unto Aaron and to his sons, Boil the flesh at the door of the tabernacle of the congregation: and there eat it with the bread that is in the basket of consecrations, as I commanded, saying, Aaron and his sons shall eat it. %%% Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti Mufumbire ennyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagira nga njogera nti Alooni n'abaana be banaabiryanga. 03LEV008.032 And that which remaineth of the flesh and of the bread shall ye burn with fire. %%% Era ekinafikkawo ku nnyama ne ku migaati munaakyokya n'omuliro. 03LEV008.033 And ye shall not go out of the door of the tabernacle of the congregation in seven days, until the days of your consecration be at an end: for seven days shall he consecrate you. %%% So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu. 03LEV008.034 As he hath done this day, so the LORD hath commanded to do, to make an atonement for you. %%% Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira. 03LEV008.035 Therefore shall ye abide at the door of the tabernacle of the congregation day and night seven days, and keep the charge of the LORD, that ye die not: for so I am commanded. %%% Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. 03LEV008.036 So Aaron and his sons did all things which the LORD commanded by the hand of Moses. %%% Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira mu mukono gwa Musa. 03LEV009.001 And it came to pass on the eighth day, that Moses called Aaron and his sons, and the elders of Israel; %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri; 03LEV009.002 And he said unto Aaron, Take thee a young calf for a sin offering, and a ram for a burnt offering, without blemish, and offer them before the LORD. %%% n'agamba Alooni nti Weetwalire ennyana ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ezitaliiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama. 03LEV009.003 And unto the children of Israel thou shalt speak, saying, Take ye a kid of the goats for a sin offering; and a calf and a lamb, both of the first year, without blemish, for a burnt offering; %%% Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, ezaakamaze omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 03LEV009.004 Also a bullock and a ram for peace offerings, to sacrifice before the LORD; and a meat offering mingled with oil: for to day the LORD will appear unto you. %%% n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta: kubanga leero Mukama anaabalabikira. 03LEV009.005 And they brought that which Moses commanded before the tabernacle of the congregation: and all the congregation drew near and stood before the LORD. %%% Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama. 03LEV009.006 And Moses said, This is the thing which the LORD commanded that ye should do: and the glory of the LORD shall appear unto you. %%% Musa n'ayogera nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira. 03LEV009.007 And Moses said unto Aaron, Go unto the altar, and offer thy sin offering, and thy burnt offering, and make an atonement for thyself, and for the people: and offer the offering of the people, and make an atonement for them; as the LORD commanded. %%% Musa n'agamba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira. 03LEV009.008 Aaron therefore went unto the altar, and slew the calf of the sin offering, which was for himself. %%% Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe. 03LEV009.009 And the sons of Aaron brought the blood unto him: and he dipped his finger in the blood, and put it upon the horns of the altar, and poured out the blood at the bottom of the altar: %%% Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, 03LEV009.010 But the fat, and the kidneys, and the caul above the liver of the sin offering, he burnt upon the altar; as the LORD commanded Moses. %%% naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera kn kyoto; nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV009.011 And the flesh and the hide he burnt with fire without the camp. %%% N'ennyama n'eddiba n'ayokera n'omuliro ebweru w'olusiisira. 03LEV009.012 And he slew the burnt offering; and Aaron's sons presented unto him the blood, which he sprinkled round about upon the altar. %%% N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna. 03LEV009.013 And they presented the burnt offering unto him, with the pieces thereof, and the head: and he burnt them upon the altar. %%% Ne bamuleetera ekiweebwayo ekyokebwa, ebitundu ebitundu kinnakimu, n'omutwe: n'abyokera ku kyoto. 03LEV009.014 And he did wash the inwards and the legs, and burnt them upon the burnt offering on the altar. %%% N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 03LEV009.015 And he brought the people's offering, and took the goat, which was the sin offering for the people, and slew it, and offered it for sin, as the first. %%% N'aleeta ekitone eky'abantu, n'addira embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi ekyali ku bw'abantu, n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga n'eyolubereberye. 03LEV009.016 And he brought the burnt offering, and offered it according to the manner. %%% N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali. 03LEV009.017 And he brought the meat offering, and took an handful thereof, and burnt it upon the altar, beside the burnt sacrifice of the morning. %%% N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako okujjuza olubatu lwe, n'agyokera ku kyoto, era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya. 03LEV009.018 He slew also the bullock and the ram for a sacrifice of peace offerings, which was for the people: and Aaron's sons presented unto him the blood, which he sprinkled upon the altar round about, %%% Era n'atta ente n'endiga ennume, ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyali ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna, 03LEV009.019 And the fat of the bullock and of the ram, the rump, and that which covereth the inwards, and the kidneys, and the caul above the liver: %%% n'amasavu g'ente: ne ku ndiga omukira ogwa ssava, n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba: 03LEV009.020 And they put the fat upon the breasts, and he burnt the fat upon the altar: %%% amasavu ne bagateeka ku bifuba n'ayokera amasavu ku kyoto: 03LEV009.021 And the breasts and the right shoulder Aaron waved for a wave offering before the LORD; as Moses commanded. %%% n'ebifuba n'ekisambi ekya ddyo Alooni n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; nga Musa bw'alagidde. 03LEV009.022 And Aaron lifted up his hand toward the people, and blessed them, and came down from offering of the sin offering, and the burnt offering, and peace offerings. %%% Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiI weebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. 03LEV009.023 And Moses and Aaron went into the tabernacle of the congregation, and came out, and blessed the people: and the glory of the LORD appeared unto all the people. %%% Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna. 03LEV009.024 And there came a fire out from before the LORD, and consumed upon the altar the burnt offering and the fat: which when all the people saw, they shouted, and fell on their faces. %%% Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne bavuunama amaaso gaabwe. 03LEV010.001 And Nadab and Abihu, the sons of Aaron, took either of them his censer, and put fire therein, and put incense thereon, and offered strange fire before the LORD, which he commanded them not. %%% Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni ne baddira ebyoterezo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omuliro, n'assaako eby'okwoteza, n'awaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama, gw'atalagiranga. 03LEV010.002 And there went out fire from the LORD, and devoured them, and they died before the LORD. %%% Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ga Mukama. 03LEV010.003 Then Moses said unto Aaron, This is it that the LORD spake, saying, I will be sanctified in them that come nigh me, and before all the people I will be glorified. And Aaron held his peace. %%% Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti Naatukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maaso g'abantu bonna naagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira. 03LEV010.004 And Moses called Mishael and Elzaphan, the sons of Uzziel the uncle of Aaron, and said unto them, Come near, carry your brethren from before the sanctuary out of the camp. %%% Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kojja wa Alooni, n'abagamba nti Musembere, musitule baganda bammwe okubaggya mu maaso g'awatukuvu mubatwale ebweru w'olusiisira. 03LEV010.005 So they went near, and carried them in their coats out of the camp; as Moses had said. %%% Awo ne basembera, ne babasitula nga bambadde ebizibawo byabwe ne babatwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bw'ayogedde. 03LEV010.006 And Moses said unto Aaron, and unto Eleazar and unto Ithamar, his sons, Uncover not your heads, neither rend your clothes; lest ye die, and lest wrath come upon all the people: but let your brethren, the whole house of Israel, bewail the burning which the LORD hath kindled. %%% Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era aleme okusunguwalira ekibiina kyonna: naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya Mukama kw'ayokezza. 03LEV010.007 And ye shall not go out from the door of the tabernacle of the congregation, lest ye die: for the anointing oil of the LORD is upon you. And they did according to the word of Moses. %%% So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: kubanga amafuta ga Mukama ag'okufukako gali ku mmwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali. 03LEV010.008 And the LORD spake unto Aaron, saying, %%% Mukama n'agamba Alooni nti 03LEV010.009 Do not drink wine nor strong drink, thou, nor thy sons with thee, when ye go into the tabernacle of the congregation, lest ye die: it shall be a statute for ever throughout your generations: %%% Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, ggwe newakubadde abaana bo awamu naawe, bwe munaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: linaabanga tteeka eritajjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna 03LEV010.010 And that ye may put difference between holy and unholy, and between unclean and clean; %%% era mulyoke mwawulengamu ebitukuvu n'ebitali bitukuvu, n'ebirongoofu n'ebitali birongoofu; 03LEV010.011 And that ye may teach the children of Israel all the statutes which the LORD hath spoken unto them by the hand of Moses. %%% era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna Mukama ge yababuulirira mu mukono gwa Musa. 03LEV010.012 And Moses spake unto Aaron, and unto Eleazar and unto Ithamar, his sons that were left, Take the meat offering that remaineth of the offerings of the LORD made by fire, and eat it without leaven beside the altar: for it is most holy: %%% Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali abaana be abaasigalawo nti Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, mugiriire awatali kizimbulukusa ku mabbali g'ekyoto: kubanga kye kitukuvu ennyo: 03LEV010.013 And ye shall eat it in the holy place, because it is thy due, and thy sons' due, of the sacrifices of the LORD made by fire: for so I am commanded. %%% era munaagiriira mu kifo ekirukuvu, kubanga lye bbanja lyo, era bbanja lya baana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. 03LEV010.014 And the wave breast and heave shoulder shall ye eat in a clean place; thou, and thy sons, and thy daughters with thee: for they be thy due, and thy sons' due, which are given out of the sacrifices of peace offerings of the children of Israel. %%% N'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa munaabiriira mu kifo ekirongoofu; ggwe ne batabani bo ne bawala bo awamu naawe: kubanga biweebwa gy'oli okuba ebbanja lyo, era ebbanja ly'abaana bo, ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe. 03LEV010.015 The heave shoulder and the wave breast shall they bring with the offerings made by fire of the fat, to wave it for a wave offering before the LORD; and it shall be thine, and thy sons' with thee, by a statute for ever; as the LORD hath commanded. %%% Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: era binaabanga bibyo, era bya baana bo awamu naawe, okuba ebbanja emirembe gyonna; nga Mukama bwe yalagira. 03LEV010.016 And Moses diligently sought the goat of the sin offering, and, behold, it was burnt: and he was angry with Eleazar and Ithamar, the sons of Aaron which were left alive, saying, %%% Musa n'anoonyeza ddala embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era, laba, ng'eyokeddwa: n'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti 03LEV010.017 Wherefore have ye not eaten the sin offering in the holy place, seeing it is most holy, and God hath given it you to bear the iniquity of the congregation, to make atonement for them before the LORD? %%% Ekibalobedde okuliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'awatukuvu kiki, kubanga kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu manso ga Mukama? 03LEV010.018 Behold, the blood of it was not brought in within the holy place: ye should indeed have eaten it in the holy place, as I commanded. %%% Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; temwandiremye kugiriira mu watukuvu, nga bwe ndagidde. 03LEV010.019 And Aaron said unto Moses, Behold, this day have they offered their sin offering and their burnt offering before the LORD; and such things have befallen me: and if I had eaten the sin offering to day, should it have been accepted in the sight of the LORD? %%% Awo Alooni n'agamba Musa nti Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era bimbaddeko ebigambo ebyenkanidde wano: era singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama? 03LEV010.020 And when Moses heard that, he was content. %%% Kale Musa bwe yawulira, n'ekiba kirungi nnyo mu maaso ge. 03LEV011.001 And the LORD spake unto Moses and to Aaron, saying unto them, %%% Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni ng'abagamba nti 03LEV011.002 Speak unto the children of Israel, saying, These are the beasts which ye shall eat among all the beasts that are on the earth. %%% Mugambe abaana ba Isiraeri nti Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi. 03LEV011.003 Whatsoever parteth the hoof, and is clovenfooted, and cheweth the cud, among the beasts, that shall ye eat. %%% Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era ekizza obwenkulumu, mu nsolo, ekyo kye munalyanga. 03LEV011.004 Nevertheless these shall ye not eat of them that chew the cud, or of them that divide the hoof: as the camel, because he cheweth the cud, but divideth not the hoof; he is unclean unto you. %%% Naye bino bye mutalyanga ku ebyo ebizza obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli. 03LEV011.005 And the coney, because he cheweth the cud, but divideth not the hoof; he is unclean unto you. %%% N'omusu kubanga guzza obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli. 03LEV011.006 And the hare, because he cheweth the cud, but divideth not the hoof; he is unclean unto you. %%% N'akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli. 03LEV011.007 And the swine, though he divide the hoof, and be clovenfooted, yet he cheweth not the cud; he is unclean to you. %%% N'embizzi kubanga eyawulamu ekinuulo era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli. 03LEV011.008 Of their flesh shall ye not eat, and their carcase shall ye not touch; they are unclean to you. %%% Ku nnyama yaazo temulyangako, so n'emirambo gyazo temugikomangako; si nnongoofu gye muli. 03LEV011.009 These shall ye eat of all that are in the waters: whatsoever hath fins and scales in the waters, in the seas, and in the rivers, them shall ye eat. %%% Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga, ebyo bye munaalyanga. 03LEV011.010 And all that have not fins and scales in the seas, and in the rivers, of all that move in the waters, and of any living thing which is in the waters, they shall be an abomination unto you: %%% Era buli ekitalina maggwa na magamba mu nnyanja ne mu migga, ku byonna ebitambulira mu mazzi ne ku biramu byonna ebiri mu mazzi, bya muzizo gye muli, 03LEV011.011 They shall be even an abomination unto you; ye shall not eat of their flesh, but ye shall have their carcases in abomination. %%% era binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, n'emirambo gyabyo munaagiyitanga gya muzizo. 03LEV011.012 Whatsoever hath no fins nor scales in the waters, that shall be an abomination unto you. %%% Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli. 03LEV011.013 And these are they which ye shall have in abomination among the fowls; they shall not be eaten, they are an abomination: the eagle, and the ossifrage, and the ospray, %%% Na bino bye munaayitanga eby'omuzizo ku nnyonyi; tebiriibwanga, bya muzizo: ennunda, n'empungu, ne makwanzi; 03LEV011.014 And the vulture, and the kite after his kind; %%% ne kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo; 03LEV011.015 Every raven after his kind; %%% buli namuŋŋoona n'engeri yaabo; 03LEV011.016 And the owl, and the night hawk, and the cuckow, and the hawk after his kind, %%% ne maaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'engeri yaayo; 03LEV011.017 And the little owl, and the cormorant, and the great owl, %%% n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkufufu; 03LEV011.018 And the swan, and the pelican, and the gier eagle, %%% n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega; 03LEV011.019 And the stork, the heron after her kind, and the lapwing, and the bat. %%% ne kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, n'ekkookootezi, n'ekinyira. 03LEV011.020 All fowls that creep, going upon all four, shall be an abomination unto you. %%% Ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana bya muzizo gye muli. 03LEV011.021 Yet these may ye eat of every flying creeping thing that goeth upon all four, which have legs above their feet, to leap withal upon the earth; %%% Naye bino bye muyinza okulya ku byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana, ebirina amagulu waggulu ku bigere byabyo, okugabuusa ku nsi; 03LEV011.022 Even these of them ye may eat; the locust after his kind, and the bald locust after his kind, and the beetle after his kind, and the grasshopper after his kind. %%% bino bye muyinza okulya ku ebyo enzige n'engeri yaayo, n'enseenene n'engeri yaayo, n'akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo. 03LEV011.023 But all other flying creeping things, which have four feet, shall be an abomination unto you. %%% Naye ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebirina amagulu ana, bya muzizo gye muli. 03LEV011.024 And for these ye shall be unclean: whosoever toucheth the carcase of them shall be unclean until the even. %%% Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaakomanga ku mulambo gwabyo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi 03LEV011.025 And whosoever beareth ought of the carcase of them shall wash his clothes, and be unclean until the even. %%% era buli asitula ku mulambo gwabyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV011.026 The carcases of every beast which divideth the hoof, and is not clovenfooted, nor cheweth the cud, are unclean unto you: every one that toucheth them shall be unclean. %%% Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga terina kigere kyaseemu, so tezza bwenkulumu, si noongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu. 03LEV011.027 And whatsoever goeth upon his paws, among all manner of beasts that go on all four, those are unclean unto you: whoso toucheth their carcase shall be unclean until the even. %%% Era buli etambuza ebibatu byayo ku nsolo zonna ezitambuza amagulu ana, ezo si nnongoofu gye muli: buli anaakomanga ku mulambo gwazo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV011.028 And he that beareth the carcase of them shall wash his clothes, and be unclean until the even: they are unclean unto you. %%% Era oyo asitula omulambo gwazo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: ezo si nnongoofu gye muli. 03LEV011.029 These also shall be unclean unto you among the creeping things that creep upon the earth; the weasel, and the mouse, and the tortoise after his kind, %%% Na bino bye bitali birongoofu gye muli ku byewalula ebyewalula ku nsi; eggunju, n'emmese, n'ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo, 03LEV011.030 And the ferret, and the chameleon, and the lizard, and the snail, and the mole. %%% ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu. 03LEV011.031 These are unclean to you among all that creep: whosoever doth touch them, when they be dead, shall be unclean until the even. %%% Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebyewalula: buli anaabikomangako, nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV011.032 And upon whatsoever any of them, when they are dead, doth fall, it shall be unclean; whether it be any vessel of wood, or raiment, or skin, or sack, whatsoever vessel it be, wherein any work is done, it must be put into water, and it shall be unclean until the even; so it shall be cleansed. %%% Era ekintu kyonna ekinaagwibwangako kyonna kyonna ku byo, nga bifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo, oba kintu kyonna kyonna, ekikoza omulimu gwonna, kikigwaniranga okuteekebwa mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu. 03LEV011.033 And every earthen vessel, whereinto any of them falleth, whatsoever is in it shall be unclean; and ye shall break it. %%% Na buli kintu eky'ebbumba, ekinaagwibwangamu kyonna kyonna ku byo, ekibanga mu kyo kyonna kinaabanga ekitali kirongoofu, nakyo munaakyasanga. 03LEV011.034 Of all meat which may be eaten, that on which such water cometh shall be unclean: and all drink that may be drunk in every such vessel shall be unclean. %%% Eky'okulya kyonna ekirimu ekiriika, ekiyinza okufukibwako amazzi, kinaabanga ekitali kirongoofu: na buli kya kunywa ekinaaywebwanga mu buli kintu (ekiri bwe kityo) kinaabanga ekitali kirongoofu. 03LEV011.035 And every thing whereupon any part of their carcase falleth shall be unclean; whether it be oven, or ranges for pots, they shall be broken down: for they are unclean, and shall be unclean unto you. %%% Era buli kintu ekinaagwibwangako ekitundu kyonna eky'omulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amasiga g'entamu, kinaamenyebwamenyebwanga: si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli. 03LEV011.036 Nevertheless a fountain or pit, wherein there is plenty of water, shall be clean: but that which toucheth their carcase shall be unclean. %%% Naye oluzzi oba obunnya omuli amazzi agakuŋŋaanyizibwa kinaabanga ekirongoofu: naye ekinaakomanga ku mulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu. 03LEV011.037 And if any part of their carcase fall upon any sowing seed which is to be sown, it shall be clean. %%% Era oba nga ku mulambo gwabyo kugwa ku nsigo yonna ey'okusiga egenda okusigibwa, yo eneebanga nnongoofu. 03LEV011.038 But if any water be put upon the seed, and any part of their carcase fall thereon, it shall be unclean unto you. %%% Naye oba ng'amazzi gafukibwa ku nsigo, ne ku mulambo gwabyo ne kugwa okwo, nga si nnongoofu gye muli. 03LEV011.039 And if any beast, of which ye may eat, die; he that toucheth the carcase thereof shall be unclean until the even. %%% Era oba ng'ensolo yonna, gye muyinza okulyako, efa; akoma ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV011.040 And he that eateth of the carcase of it shall wash his clothes, and be unclean until the even: he also that beareth the carcase of it shall wash his clothes, and be unclean until the even. %%% N'oyo anaalyanga ku mulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era n'oyo anaasitulanga omulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV011.041 And every creeping thing that creepeth upon the earth shall be an abomination; it shall not be eaten. %%% Na buli ekyewalula ekyewalula ku nsi kya muzizo; tekiriibwanga. 03LEV011.042 Whatsoever goeth upon the belly, and whatsoever goeth upon all four, or whatsoever hath more feet among all creeping things that creep upon the earth, them ye shall not eat; for they are an abomination. %%% Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo. 03LEV011.043 Ye shall not make yourselves abominable with any creeping thing that creepeth, neither shall ye make yourselves unclean with them, that ye should be defiled thereby. %%% Temwegwagwawazanga na kyewalula kyonna, so temwefuulanga nabyo abatali balongoofu, mubeere n'empitambi bwe mutyo. 03LEV011.044 For I am the LORD your God: ye shall therefore sanctify yourselves, and ye shall be holy; for I am holy: neither shall ye defile yourselves with any manner of creeping thing that creepeth upon the earth. %%% Kubanga nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi. 03LEV011.045 For I am the LORD that bringeth you up out of the land of Egypt, to be your God: ye shall therefore be holy, for I am holy. %%% Kubanga nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu. 03LEV011.046 This is the law of the beasts, and of the fowl, and of every living creature that moveth in the waters, and of every creature that creepeth upon the earth: %%% Eryo lye tteeka ery'ensolo n'ery'ennyonyi n'erya buli kitonde ekiramu ekitambula mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalula ku nsi: 03LEV011.047 To make a difference between the unclean and the clean, and between the beast that may be eaten and the beast that may not be eaten. %%% okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ekiramu ekiriika n'ekiramu ekitaliika. 03LEV012.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV012.002 Speak unto the children of Israel, saying, If a woman have conceived seed, and born a man child: then she shall be unclean seven days; according to the days of the separation for her infirmity shall she be unclean. %%% Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu. 03LEV012.003 And in the eighth day the flesh of his foreskin shall be circumcised. %%% Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gunaakomolwanga. 03LEV012.004 And she shall then continue in the blood of her purifying three and thirty days; she shall touch no hallowed thing, nor come into the sanctuary, until the days of her purifying be fulfilled. %%% Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe; takomanga ku kintu ekitukuvu, so tayingiranga mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa. 03LEV012.005 But if she bear a maid child, then she shall be unclean two weeks, as in her separation: and she shall continue in the blood of her purifying threescore and six days. %%% Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe. 03LEV012.006 And when the days of her purifying are fulfilled, for a son, or for a daughter, she shall bring a lamb of the first year for a burnt offering, and a young pigeon, or a turtledove, for a sin offering, unto the door of the tabernacle of the congregation, unto the priest: %%% Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga; ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona: 03LEV012.007 Who shall offer it before the LORD, and make an atonement for her; and she shall be cleansed from the issue of her blood. This is the law for her that hath born a male or a female. %%% kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala. 03LEV012.008 And if she be not able to bring a lamb, then she shall bring two turtles, or two young pigeons; the one for the burnt offering, and the other for a sin offering: and the priest shall make an atonement for her, and she shall be clean. %%% Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu. 03LEV013.001 And the LORD spake unto Moses and Aaron, saying, %%% Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 03LEV013.002 When a man shall have in the skin of his flesh a rising, a scab, or bright spot, and it be in the skin of his flesh like the plague of leprosy; then he shall be brought unto Aaron the priest, or unto one of his sons the priests: %%% Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe erungudde ku ddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwadde y'ebigenge ku ddiba ly'omubiri gwe, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona: 03LEV013.003 And the priest shall look on the plague in the skin of the flesh: and when the hair in the plague is turned white, and the plague in sight be deeper than the skin of his flesh, it is a plague of leprosy: and the priest shall look on him, and pronounce him unclean. %%% kale kabona anaakeberanga endwadde eri ku ddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kifulumye wansi w'eddiba ly'omubiri gwe, nga ye ndwadde y'ebigenge: awo kabona anaamukeberanga, n'amwatulira nga si mulongoofu. 03LEV013.004 If the bright spot be white in the skin of his flesh, and in sight be not deeper than the skin, and the hair thereof be not turned white; then the priest shall shut up him that hath the plague seven days: %%% Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku ddiba ly'omubiri gwe, n'ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga tebufuuse bweru, kale kabona anaasibiranga ow'endwadde ennaku musanvu: 03LEV013.005 And the priest shall look on him the seventh day: and, behold, if the plague in his sight be at a stay, and the plague spread not in the skin; then the priest shall shut him up seven days more: %%% awo kabona alimukebera ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo; n'endwadde nga tebunye ku ddiba, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu endala: 03LEV013.006 And the priest shall look on him again the seventh day: and, behold, if the plague be somewhat dark, and the plague spread not in the skin, the priest shall pronounce him clean: it is but a scab: and he shall wash his clothes, and be clean. %%% awo kabona alimukebera nate ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, endwadde bw'eba nga tekyalabika nnyo, n'endwadde nga tebunye ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: nga kye kikuta: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu 03LEV013.007 But if the scab spread much abroad in the skin, after that he hath been seen of the priest for his cleansing, he shall be seen of the priest again: %%% Naye ekikuta bwe kinaabunanga ku ddiba, ng'amaze okweraga eri kabona olw'okulongoosebwa kwe, aneeraganga nate eri kabona: 03LEV013.008 And if the priest see that, behold, the scab spreadeth in the skin, then the priest shall pronounce him unclean: it is a leprosy. %%% kale kabona anaakeberanga, era, laba, ekikuta bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga bye bigenge. 03LEV013.009 When the plague of leprosy is in a man, then he shall be brought unto the priest; %%% Endwadde y'ebigenge bw'ebanga ekutte omuntu, awo anaaleetebwanga eri kabona; 03LEV013.010 And the priest shall see him: and, behold, if the rising be white in the skin, and it have turned the hair white, and there be quick raw flesh in the rising; %%% kabona n'akebera, kale, laba, ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku ddiba, era nga kifudde obwoya okuba obweru, era ennyama enjere ennamu ng'eri awali ekizimba, 03LEV013.011 It is an old leprosy in the skin of his flesh, and the priest shall pronounce him unclean, and shall not shut him up: for he is unclean. %%% nga bye bigenge eby'edda ku ddiba ly'omubiri gwe, era kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: tamusibanga; kubanga oyo si mulongoofu. 03LEV013.012 And if a leprosy break out abroad in the skin, and the leprosy cover all the skin of him that hath the plague from his head even to his foot, wheresoever the priest looketh; %%% Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku ddiba, ebigenge ne bibuna eddiba lyonna ery'omulwadde okuva ku mutwe okutuusa ku bigere, okulaba kwonna kabona kw'anaalabanga; 03LEV013.013 Then the priest shall consider: and, behold, if the leprosy have covered all his flesh, he shall pronounce him clean that hath the plague: it is all turned white: he is clean. %%% kale kabona anaakeberanga: awo, laba, ebigenge bwe binaabanga bibunye omubiri gwe gwonna, anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: byonna bifuuse okuba ebyeru: oyo mulongoofu. 03LEV013.014 But when raw flesh appeareth in him, he shall be unclean. %%% Naye ennyama enjere bw'eneerabikanga ku ye, anaabanga atali mulongoofu. 03LEV013.015 And the priest shall see the raw flesh, and pronounce him to be unclean: for the raw flesh is unclean: it is a leprosy. %%% Awo kabona anaakeberanga ennyama enjere, n'amwatulira nga si mulongoofu: ennyama enjere si nnongoofu: bye bigenge. 03LEV013.016 Or if the raw flesh turn again, and be changed unto white, he shall come unto the priest; %%% Oba ennyama enjere bw'ekyukanga nate n'efuuka okuba enjeru, kale anajjanga eri kabona, 03LEV013.017 And the priest shall see him: and, behold, if the plague be turned into white; then the priest shall pronounce him clean that hath the plague: he is clean. %%% kabona n'amukebera: era, laba, endwadde bw'ebanga efuuse okuba enjeru, kale kabona anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: oyo mulongoofu. 03LEV013.018 The flesh also, in which, even in the skin thereof, was a boil, and is healed, %%% Era omubiri bwe gunaabangako ejjute ku ddiba lyagwo, nalyo nga lyawona, 03LEV013.019 And in the place of the boil there be a white rising, or a bright spot, white, and somewhat reddish, and it be shewed to the priest; %%% n'awaali ejjute ne wabaawo ekizimba ekyeru, oba mbalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona; 03LEV013.020 And if, when the priest seeth it, behold, it be in sight lower than the skin, and the hair thereof be turned white; the priest shall pronounce him unclean: it is a plague of leprosy broken out of the boil. %%% awo kabona anaakeberanga, era, laba, ekifaananyi kyakyo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga bufuuse okuba obweru, kale kabona anamwatuliranga nga si mulongoofu: ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute. 03LEV013.021 But if the priest look on it, and, behold, there be no white hairs therein, and if it be not lower than the skin, but be somewhat dark; then the priest shall shut him up seven days: %%% Naye kabona bw'anaakikeberanga, era, laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekifulumye wansi w'eddiba, naye nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu: 03LEV013.022 And if it spread much abroad in the skin, then the priest shall pronounce him unclean: it is a plague. %%% awo bwe kinaabunanga ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: eyo ye ndwadde: 03LEV013.023 But if the bright spot stay in his place, and spread not, it is a burning boil; and the priest shall pronounce him clean. %%% Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, era nga tebunye, eyo nga ye enkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu. 03LEV013.024 Or if there be any flesh, in the skin whereof there is a hot burning, and the quick flesh that burneth have a white bright spot, somewhat reddish, or white; %%% Oba omubiri bwe gunaabangako okwokebwa n'omuliro ku ddiba lyagwo, ennyama ennamu eyokeddwa n'efuuka okuba embalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, oba njeru; 03LEV013.025 Then the priest shall look upon it: and, behold, if the hair in the bright spot be turned white, and it be in sight deeper than the skin; it is a leprosy broken out of the burning: wherefore the priest shall pronounce him unclean: it is the plague of leprosy. %%% awo kabona anaagikeberanga: era, laba, obwoya obw'omu mbalabe erungudde bwe bunaabanga bufuuse okuba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye wansi w'eddiba; bino bye bigenge, byafuluma awaayokebwa: kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge. 03LEV013.026 But if the priest look on it, and, behold, there be no white hair in the bright spot, and it be no lower than the other skin, but be somewhat dark; then the priest shall shut him up seven days: %%% Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tefulumye wansi w'eddiba, naye nga terabika bulungi; kale kabona anaamusibiranga ennaku musanvu: 03LEV013.027 And the priest shall look upon him the seventh day: and if it be spread much abroad in the skin, then the priest shall pronounce him unclean: it is the plague of leprosy. %%% kale kabona alimukebera ku lunaku olw'omusaavu: bw'eneebunanga ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge. 03LEV013.028 And if the bright spot stay in his place, and spread not in the skin, but it be somewhat dark; it is a rising of the burning, and the priest shall pronounce him clean: for it is an inflammation of the burning. %%% Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku ddiba, era nga terabika bulungi; nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa. 03LEV013.029 If a man or woman have a plague upon the head or the beard; %%% Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kirevu, 03LEV013.030 Then the priest shall see the plague: and, behold, if it be in sight deeper than the skin; and there be in it a yellow thin hair; then the priest shall pronounce him unclean: it is a dry scall, even a leprosy upon the head or beard. %%% kale kabona anaakeberanga endwadde: awo, laba, ekifaananyi kyayo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, era nga mulimu enviiri eza kyenvu ez'entalaaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: ekyo kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu. 03LEV013.031 And if the priest look on the plague of the scall, and, behold, it be not in sight deeper than the skin, and that there is no black hair in it; then the priest shall shut up him that hath the plague of the scall seven days: %%% Era kabona bw'anaakeberanga endwadde ey'ekikakampa, era, laba, ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamusibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu: 03LEV013.032 And in the seventh day the priest shall look on the plague: and, behold, if the scall spread not, and there be in it no yellow hair, and the scall be not in sight deeper than the skin; %%% awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwadde: era laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye, so nga tewali nviiri za kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumye wansi w'eddiba, 03LEV013.033 He shall be shaven, but the scall shall he not shave; and the priest shall shut up him that hath the scall seven days more: %%% kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era kabona anaasibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu endala: 03LEV013.034 And in the seventh day the priest shall look on the scall: and, behold, if the scall be not spread in the skin, nor be in sight deeper than the skin; then the priest shall pronounce him clean: and he shall wash his clothes, and be clean. %%% awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera ekikakampa: kale, laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye ku ddiba, n'ekifaananyi kyakyo nga tekifulumye wansi w'eddiba; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu. 03LEV013.035 But if the scall spread much in the skin after his cleansing; %%% Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku ddiba ng'amaze okulongoosebwa; 03LEV013.036 Then the priest shall look on him: and, behold, if the scall be spread in the skin, the priest shall not seek for yellow hair; he is unclean. %%% awo kabona anaamukeberanga: era, laba, ekikakampa bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, kabona tanoonyanga nviiri za kyenvu; oyo si mulongoofu. 03LEV013.037 But if the scall be in his sight at a stay, and that there is black hair grown up therein; the scall is healed, he is clean: and the priest shall pronounce him clean. %%% Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo mulongoofu: kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu. 03LEV013.038 If a man also or a woman have in the skin of their flesh bright spots, even white bright spots; %%% Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'embalabe ezirungudde ku ddiba ly'omubiri gwabwe, ze mbalabe ezirungudde enjeru; 03LEV013.039 Then the priest shall look: and, behold, if the bright spots in the skin of their flesh be darkish white; it is a freckled spot that groweth in the skin; he is clean. %%% kale kabona anaakeberanga: awo, laba, embalabe ezirungudde eziri ku ddiba ly'omubiri gwabwe bwe zinaabanga enjeruyeru; nga bwe butulututtu, nga bufulumye mu ddiba; oyo mulongoofu. 03LEV013.040 And the man whose hair is fallen off his head, he is bald; yet is he clean. %%% Era omusajja bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; (naye) mulongoofu. 03LEV013.041 And he that hath his hair fallen off from the part of his head toward his face, he is forehead bald: yet is he clean. %%% Era bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'omu kawumpo, nga wa kiwalaata kya mu kawumpo; naye nga mulongoofu. 03LEV013.042 And if there be in the bald head, or bald forehead, a white reddish sore; it is a leprosy sprung up in his bald head, or his bald forehead. %%% Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ak'ekiwalaata; ebyo bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata. 03LEV013.043 Then the priest shall look upon it: and, behold, if the rising of the sore be white reddish in his bald head, or in his bald forehead, as the leprosy appeareth in the skin of the flesh; %%% Awo kabona anaamukeberanga: kale, laba, ekizimba eky'endwadde bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku ddiba ly'omubiri; 03LEV013.044 He is a leprous man, he is unclean: the priest shall pronounce him utterly unclean; his plague is in his head. %%% oyo nga wa bigenge, si mulongoofu: kabona talemanga kumwatulira nga si mulongoofu; endwadde ng'eri ku mutwe gwe. 03LEV013.045 And the leper in whom the plague is, his clothes shall be rent, and his head bare, and he shall put a covering upon his upper lip, and shall cry, Unclean, unclean. %%% Era omugenge alina endwadde, engoye ze zinaabanga enjulifuyulifu, n'enviiri ez'oku mutwe gwe tazisibangako, era anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayogereranga waggulu nti Siri mulongoofu, siri mulongoofu. 03LEV013.046 All the days wherein the plague shall be in him he shall be defiled; he is unclean: he shall dwell alone; without the camp shall his habitation be. %%% Ennaku zonna endwadde ng'ekyali ku ye anaabanga atali mulongoofu; si mulongoofu: anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira. 03LEV013.047 The garment also that the plague of leprosy is in, whether it be a woollen garment, or a linen garment; %%% Era n'ekyambalo ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kyambalo kya byoya bya ndiga oba kyambalo kya bafuta; 03LEV013.048 Whether it be in the warp, or woof; of linen, or of woollen; whether in a skin, or in any thing made of skin; %%% bwe bibanga ku wuuzi ez'obusimba oba ku z'obukiika; oba kya bafuta oba kya byoya; bwe bibanga ku ddiba oba ku kintu ekikolebwa n'eddiba; 03LEV013.049 And if the plague be greenish or reddish in the garment, or in the skin, either in the warp, or in the woof, or in any thing of skin; it is a plague of leprosy, and shall be shewed unto the priest: %%% endwadde bw'eneebanga eya nnawandagala oba emmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona: 03LEV013.050 And the priest shall look upon the plague, and shut up it that hath the plague seven days: %%% awo kabona anaakeberanga endwadde, n'asibira ekiriko endwadde ennaku musanvu: 03LEV013.051 And he shall look on the plague on the seventh day: if the plague be spread in the garment, either in the warp, or in the woof, or in a skin, or in any work that is made of skin; the plague is a fretting leprosy; it is unclean. %%% kale alikebera endwadde ku lunaku olw'omusanvu: endwadde bw'eneebanga ebunye ku kyambalo, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku ddiba, omulimu gwonna eddiba gwe likola; endwadde nga bigenge ebirya; nga si kirongoofu. 03LEV013.052 He shall therefore burn that garment, whether warp or woof, in woollen or in linen, or any thing of skin, wherein the plague is: for it is a fretting leprosy; it shall be burnt in the fire. %%% Awo anaayokyanga ekyambalo, oba wuuzi za busimba, oba za bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, omuli endwadde: kubanga ebyo bye bigenge ebirya; kinaayokebwanga mu muliro. 03LEV013.053 And if the priest shall look, and, behold, the plague be not spread in the garment, either in the warp, or in the woof, or in any thing of skin; %%% Era kabona bw'anaakeberanga, kale, laba, endwadde nga tebunye mu kyambalo, newakubadde mu wuuzi ez'obusimba, newakubadde mu z'obukiika, newakubadde mu kintu kyonna eky'eddiba; 03LEV013.054 Then the priest shall command that they wash the thing wherein the plague is, and he shall shut it up seven days more: %%% kale kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, n'akisibira ennaku musanvu endala: 03LEV013.055 And the priest shall look on the plague, after that it is washed: and, behold, if the plague have not changed his colour, and the plague be not spread; it is unclean; thou shalt burn it in the fire; it is fret inward, whether it be bare within or without. %%% awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu. 03LEV013.056 And if the priest look, and, behold, the plague be somewhat dark after the washing of it; then he shall rend it out of the garment, or out of the skin, or out of the warp, or out of the woof: %%% Era kabona bw'anaakeberanga, era, laba, endwadde nga terabika bulungi ng'emaze okwozebwa, kale anaagiyuzanga okugiggya mu kyambalo oba mu ddiba, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika: 03LEV013.057 And if it appear still in the garment, either in the warp, or in the woof, or in any thing of skin; it is a spreading plague: thou shalt burn that wherein the plague is with fire. %%% era bw'eneebanga ekyalabika mu kyambalo, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, ng'efuutuuka: onooyokyanga n'omuliro ekyo ekirimu endwadde. 03LEV013.058 And the garment, either warp, or woof, or whatsoever thing of skin it be, which thou shalt wash, if the plague be departed from them, then it shall be washed the second time, and shall be clean. %%% N'ekyambalo oba wuuzi ez'obusimba, oba ez'obukiika, oba kintu kyonna eky'eddiba nga bwe kinaabanga, ky'onooyozanga, endwadde bw'eneebanga ebivuddemu, kale ne kiryoka kyozebwanga omulundi ogw'okubiri, ne kiba kirongoofu. 03LEV013.059 This is the law of the plague of leprosy in a garment of woollen or linen, either in the warp, or woof, or any thing of skins, to pronounce it clean, or to pronounce it unclean. %%% Eryo lye tteeka ery'endwadde y'ebigenge mu kyambalo eky'ebyoya oba mu kya bafuta, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obuliika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, okukyatuliranga nga kirongoofu, oba okukyatuliranga nga si kirongoofu. 03LEV014.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV014.002 This shall be the law of the leper in the day of his cleansing: He shall be brought unto the priest:%%% Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe: anaaleetebwanga eri kabona: 03LEV014.003 And the priest shall go forth out of the camp; and the priest shall look, and, behold, if the plague of leprosy be healed in the leper; %%% awo kabona anaafulumanga mu lusiisira; kabona n'akebera, kale, laba, endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye ku mugenge; 03LEV014.004 Then shall the priest command to take for him that is to be cleansed two birds alive and clean, and cedar wood, and scarlet, and hyssop: %%% kale kabona anaalagiranga okutwalira oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi bbiri ennongoofu ennamu, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu: 03LEV014.005 And the priest shall command that one of the birds be killed in an earthen vessel over running water: %%% awo kabona anaalagiranga okuttako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta: 03LEV014.006 As for the living bird, he shall take it, and the cedar wood, and the scarlet, and the hyssop, and shall dip them and the living bird in the blood of the bird that was killed over the running water: %%% n'ennyonyi ennamu anaagiddiranga n'omuti omwerezi n'olugoye olumyufu n'ezobu, n'annyika ebyo n'ennyonyi ennamu mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa ku mazzi agakulukuta: 03LEV014.007 And he shall sprinkle upon him that is to be cleansed from the leprosy seven times, and shall pronounce him clean, and shall let the living bird loose into the open field. %%% awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga. 03LEV014.008 And he that is to be cleansed shall wash his clothes, and shave off all his hair, and wash himself in water, that he may be clean: and after that he shall come into the camp, and shall tarry abroad out of his tent seven days. %%% N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu: oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye. 03LEV014.009 But it shall be on the seventh day, that he shall shave all his hair off his head and his beard and his eyebrows, even all his hair he shall shave off: and he shall wash his clothes, also he shall wash his flesh in water, and he shall be clean. %%% Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omusanvu, anaamwanga enviiri ze zonna okuziggya ku mutwe gwe n'ebirevu bye n'ebisige bye, enviiri ze zonna anaazimwanga: era anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu. 03LEV014.010 And on the eighth day he shall take two he lambs without blemish, and one ewe lamb of the first year without blemish, and three tenth deals of fine flour for a meat offering, mingled with oil, and one log of oil. %%% Awo ku lunaku olw'omunaana anaddiranga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi ogumu ogwakamaze omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekibya kimu eky'amafuta. 03LEV014.011 And the priest that maketh him clean shall present the man that is to be made clean, and those things, before the LORD, at the door of the tabernacle of the congregation: %%% Ne kabona amulongoosa anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: 03LEV014.012 And the priest shall take one he lamb, and offer him for a trespass offering, and the log of oil, and wave them for a wave offering before the LORD: %%% awo kabona anaddirangako gumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango n’ekibya eky’amafuta, n’abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 03LEV014.013 And he shall slay the lamb in the place where he shall kill the sin offering and the burnt offering, in the holy place: for as the sin offering is the priest's, so is the trespass offering: it is most holy: %%% anattirwanga omwana gw'endiga omulume mu kifo mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ekiri mu kifo ekitukuvu: kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: ekyo kitukuvu nnyo; 03LEV014.014 And the priest shall take some of the blood of the trespass offering, and the priest shall put it upon the tip of the right ear of him that is to be cleansed, and upon the thumb of his right hand, and upon the great toe of his right foot: %%% kale kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'okukigere kye ekya ddyo: 03LEV014.015 And the priest shall take some of the log of oil, and pour it into the palm of his own left hand: %%% kale kabona anaddiranga ku kibya ky'amafuta, n'agafuka mu kibatu eky'omukono gwe ye ogwa kkono: 03LEV014.016 And the priest shall dip his right finger in the oil that is in his left hand, and shall sprinkle of the oil with his finger seven times before the LORD: %%% awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'amansira ku mafuta n'olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso ga Mukama: 03LEV014.017 And of the rest of the oil that is in his hand shall the priest put upon the tip of the right ear of him that is to be cleansed, and upon the thumb of his right hand, and upon the great toe of his right foot, upon the blood of the trespass offering: %%% ne ku mafuta agasigalawo agali mu mukono gwe kabona anaagateekanga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango: 03LEV014.018 And the remnant of the oil that is in the priest's hand he shall pour upon the head of him that is to be cleansed: and the priest shall make an atonement for him before the LORD. %%% n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa: era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama. 03LEV014.019 And the priest shall offer the sin offering, and make an atonement for him that is to be cleansed from his uncleanness; and afterward he shall kill the burnt offering: %%% Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe: oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa: 03LEV014.020 And the priest shall offer the burnt offering and the meat offering upon the altar: and the priest shall make an atonement for him, and he shall be clean. %%% era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto: era kabona anaamutangiriranga, kale anaabanga mulongoofu. 03LEV014.021 And if he be poor, and cannot get so much; then he shall take one lamb for a trespass offering to be waved, to make an atonement for him, and one tenth deal of fine flour mingled with oil for a meat offering, and a log of oil; %%% Era bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu kimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta; 03LEV014.022 And two turtledoves, or two young pigeons, such as he is able to get; and the one shall be a sin offering, and the other a burnt offering. %%% ne bakaamukuukulu babiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okufuna; erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa. 03LEV014.023 And he shall bring them on the eighth day for his cleansing unto the priest, unto the door of the tabernacle of the congregation, before the LORD. %%% Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama. 03LEV014.024 And the priest shall take the lamb of the trespass offering, and the log of oil, and the priest shall wave them for a wave offering before the LORD: %%% Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, kabona n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa: 03LEV014.025 And he shall kill the lamb of the trespass offering, and the priest shall take some of the blood of the trespass offering, and put it upon the tip of the right ear of him that is to be cleansed, and upon the thumb of his right hand, and upon the great toe of his right foot: %%% n'atta omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo: 03LEV014.026 And the priest shall pour of the oil into the palm of his own left hand: %%% awo kabona anaafukanga ku mafuta mu kibatu ky'omukono gwe ye ogwa kkono: 03LEV014.027 And the priest shall sprinkle with his right finger some of the oil that is in his left hand seven times before the LORD: %%% kabona n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono emirundi musanvu mu maaso ga Mukama: 03LEV014.028 And the priest shall put of the oil that is in his hand upon the tip of the right ear of him that is to be cleansed, and upon the thumb of his right hand, and upon the great toe of his right foot, upon the place of the blood of the trespass offering: %%% kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe n'agateeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, mu kifo eky'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango: 03LEV014.029 And the rest of the oil that is in the priest's hand he shall put upon the head of him that is to be cleansed, to make an atonement for him before the LORD. %%% n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, akumutangirira mu maaso ga Mukama. 03LEV014.030 And he shall offer the one of the turtledoves, or of the young pigeons, such as he can get; %%% Era anaawangayo ku bakaamukuukulu omu, oba ku mayiba amato limu, nga bw'anaayinzanga okufuna; 03LEV014.031 Even such as he is able to get, the one for a sin offering, and the other for a burnt offering, with the meat offering: and the priest shall make an atonement for him that is to be cleansed before the LORD. %%% nga bw'anaayinzanga okufuna, erimu lya kiweebwayo otw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta: era kabana anaatangiriranga oyo agenda okulongoosebwa mu maaso ga Mukama. 03LEV014.032 This is the law of him in whom is the plague of leprosy, whose hand is not able to get that which pertaineth to his cleansing. %%% Eryo lye tteeka ly'oyo aliko endwadde y'ebigenge, atayinza kufuna bya kulongoosebwa kwe. 03LEV014.033 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 03LEV014.034 When ye be come into the land of Canaan, which I give to you for a possession, and I put the plague of leprosy in a house of the land of your possession; %%% Bwe muliba nga mutuuse mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba ey'omu nsi ey'obutaka bwammwe; 03LEV014.035 And he that owneth the house shall come and tell the priest, saying, It seemeth to me there is as it were a plague in the house: %%% awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti Ennyumba efaanana gye ndi okubaamu endwadde: 03LEV014.036 Then the priest shall command that they empty the house, before the priest go into it to see the plague, that all that is in the house be not made unclean: and afterward the priest shall go in to see the house: %%% kale kabona anaalagiranga okumalamu ebintu mu nnyumba, kabona nga tannaba kuyingira kulaba ndwadde, byonna ebiri mu nnyumba bireme okufuuka ebitali birongoofu: oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba: 03LEV014.037 And he shall look on the plague, and, behold, if the plague be in the walls of the house with hollow strakes, greenish or reddish, which in sight are lower than the wall; %%% kale anaakeberanga endwadde, era, laba, endwadde bw'eneebanga ku bisenge by'ennyumba nga byewummuddewummudde, enguudo oba nga za nnawaadagala oba mmyufumyufu, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye munda w'ekisenge; 03LEV014.038 Then the priest shall go out of the house to the door of the house, and shut up the house seven days: %%% awo kabona anaafulumanga mu nnyumba n'agenda ku mulyango gw'ennyumba, n'aggalira ennyumba ennaku musanvu: 03LEV014.039 And the priest shall come again the seventh day, and shall look: and, behold, if the plague be spread in the walls of the house; %%% kale kabona anaakomangawo ku lunaku olw'omusanvu, n'akebera: era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba; 03LEV014.040 Then the priest shall command that they take away the stones in which the plague is, and they shall cast them into an unclean place without the city: %%% kale kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga: 03LEV014.041 And he shall cause the house to be scraped within round about, and they shall pour out the dust that they scrape off without the city into an unclean place: %%% era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoni gye bakolokota ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu; 03LEV014.042 And they shall take other stones, and put them in the place of those stones; and he shall take other morter, and shall plaister the house. %%% ne baddira amayinja amalala, ne bagateeka mu kifo ky'amayinja ago; n'addira ennoni endala, n'agisiiga ku nnyumba. 03LEV014.043 And if the plague come again, and break out in the house, after that he hath taken away the stones, and after he hath scraped the house, and after it is plaistered; %%% Awo endwadde bw'eneekomangawo n'efuutuuka ku nnyumba, ng'amaze okuggyamu amayinja, era ng'amaze okukolokota ennyumba, era ng'emaze okusiigibwako; 03LEV014.044 Then the priest shall come and look, and, behold, if the plague be spread in the house, it is a fretting leprosy in the house: it is unclean. %%% kale kabona anaayingiranga n'akebera, era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku nnyumba, ebyo nga bye bigenge ebirya mu nnyumba: nga si nnongoofu. 03LEV014.045 And he shall break down the house, the stones of it, and the timber thereof, and all the morter of the house; and he shall carry them forth out of the city into an unclean place. %%% Awo anaayabyanga ennyumba, amayinja gaayo, n'emiti gyayo, n'ennoni yonna ey'ennyumba; era anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu. 03LEV014.046 Moreover he that goeth into the house all the while that it is shut up shall be unclean until the even. %%% Era nate buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera kyonna ng'ekyali nzigale anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV014.047 And he that lieth in the house shall wash his clothes; and he that eateth in the house shall wash his clothes. %%% Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze. 03LEV014.048 And if the priest shall come in, and look upon it, and, behold, the plague hath not spread in the house, after the house was plaistered: then the priest shall pronounce the house clean, because the plague is healed. %%% Era kabona bw'anaayingiranga, n'akebera, era, laba, endwadde nga tebunye ku nnyumba, ennyumba ng'emaze okusiigibwako; kale kabona anaayatuliranga ennyumba nga nnongoofu, kubanga endwadde ng'ewonye. 03LEV014.049 And he shall take to cleanse the house two birds, and cedar wood, and scarlet, and hyssop: %%% Awo anaddiranga olw'okulongoosa ennyumba ennyoayi bbiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu: 03LEV014.050 And he shall kill the one of the birds in an earthen vessel over running water: %%% n'attako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta: 03LEV014.051 And he shall take the cedar wood, and the hyssop, and the scarlet, and the living bird, and dip them in the blood of the slain bird, and in the running water, and sprinkle the house seven times: %%% n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu n'ennyonyi ennamu, n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa, ne mu mazzi ago agakulukuta, n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu: 03LEV014.052 And he shall cleanse the house with the blood of the bird, and with the running water, and with the living bird, and with the cedar wood, and with the hyssop, and with the scarlet: %%% era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi ago agakulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu: 03LEV014.053 But he shall let go the living bird out of the city into the open fields, and make an atonement for the house: and it shall be clean. %%% naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga okuva mu kibuga: bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba: awo eneebanga nnongoofu. 03LEV014.054 This is the law for all manner of plague of leprosy, and scall, %%% Eryo lye tteeka ly'engeri yonna ey'endwadde y'ebigenge, era ery'ekikakampa; 03LEV014.055 And for the leprosy of a garment, and of a house, %%% era ery'ebigenge eby'okukyambalo, era ery'ennyumba; 03LEV014.056 And for a rising, and for a scab, and for a bright spot: %%% era ery'ekizimba, era ery'ekikuta, era ery'embalabe erungudde: 03LEV014.057 To teach when it is unclean, and when it is clean: this is the law of leprosy. %%% okuyigirizanga bwe kinaabanga ekitali kirongoofu, era bwe kinaabanga ekirongoofu: eryo lye tteeka ly'ebigenge. 03LEV015.001 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti %%% Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 03LEV015.002 Mugambe abaana ba Isiraeri mubabuulire nti Omusajja yenna bw’abaabanga n’enziku eva mu mubiri gwe; nga simulongoofu olw'enziku ye. %%% Mugambe abaana ba Isiraeri mubabuulire nti Omusajja yenna bw’abaabanga n’enziku eva mu mubiri gwe; nga simulongoofu olw'enziku ye. 03LEV015.003 Era buno bwe bunaabanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atonnya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno bwe butali bulongoofu bwe. %%% Era buno bwe bunaabanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atonnya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno bwe butali bulongoofu bwe. 03LEV015.004 Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako kinaabanga kitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga kitali kirongoofu. %%% Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako kinaabanga kitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga kitali kirongoofu. 03LEV015.005 Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.006 N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.007 N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.008 Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; kale anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; kale anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.009 N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu. %%% N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu. 03LEV015.010 Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ekibadde wansi we anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'oyo anaasitulanga ebyo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ekibadde wansi we anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'oyo anaasitulanga ebyo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.011 Na buli omuziku gw'anaakomangako, nga tannanaaba ngalo mu mazzi, anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Na buli omuziku gw'anaakomangako, nga tannanaaba ngalo mu mazzi, anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.012 N'ekintu ky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga: na buli kintu ky'omuti kinaayozebwanga mu mazzi. %%% N'ekintu ky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga: na buli kintu ky'omuti kinaayozebwanga mu mazzi. 03LEV015.013 Era omuziku bw'anaalongoosebwangako enziku ye, kale aneebaliranga ennaku musanvu olw'okulongoosebwa kwe, n'ayoza engoye ze; n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu. %%% Era omuziku bw'anaalongoosebwangako enziku ye, kale aneebaliranga ennaku musanvu olw'okulongoosebwa kwe, n'ayoza engoye ze; n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu. 03LEV015.014 Era ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga ba kamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, najja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona: %%% Era ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga ba kamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, najja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona: 03LEV015.015 kale kabona anaagawangayo, erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'enziku ye. %%% kale kabona anaagawangayo, erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'enziku ye. 03LEV015.016 Era omusajja yenna bw'anaavangamu amaanyi, kale anaanaabanga omubiri gwe gwonna mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Era omusajja yenna bw'anaavangamu amaanyi, kale anaanaabanga omubiri gwe gwonna mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.017 Na buli kyambalo, na buli ddiba, omuli amaanyi, kinaayozebwanga n'amazzi, ne kiba ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Na buli kyambalo, na buli ddiba, omuli amaanyi, kinaayozebwanga n'amazzi, ne kiba ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.018 Era n'omukazi omusajja gw'anaasulanga naye n'amaanyi, bombi banaanaabanga mu mazzi, ne baba abatali balongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Era n'omukazi omusajja gw'anaasulanga naye n'amaanyi, bombi banaanaabanga mu mazzi, ne baba abatali balongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.019 Era omukazi bw'anaabanga n'enziku, n'enziku ye mu mubiri gwe nga ya musaayi, anaamalanga ennaku musanvu ez'okweyawula kwe: na buli anaamukomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Era omukazi bw'anaabanga n'enziku, n'enziku ye mu mubiri gwe nga ya musaayi, anaamalanga ennaku musanvu ez'okweyawula kwe: na buli anaamukomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.020 Na buli kintu ky'anaasulangako mu biro by'okweyawula kwe kinaabanga ekitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. %%% Na buli kintu ky'anaasulangako mu biro by'okweyawula kwe kinaabanga ekitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. 03LEV015.021 Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.022 Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.023 Era bwe kinaabanga ku kitanda, oba ku kintu kyonna ky'atuddeko, bw'anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Era bwe kinaabanga ku kitanda, oba ku kintu kyonna ky'atuddeko, bw'anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.024 Era omusajja yenna bw'anaasulanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne buba ku ye, kale anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. %%% Era omusajja yenna bw'anaasulanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne buba ku ye, kale anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. 03LEV015.025 Era omukazi bw'anaavangamu omusaayi gwe ennaku nnyingi so nga si bye biro eby'okweyawula kwe, oba bw'anaavangamu omusaayi okusukkirira ebiro eby'okweyawula kwe; ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe anaabanga nga bw'aba mu nnaku ez'okweyawula kwe: oyo nga si mulongoofu. %%% Era omukazi bw'anaavangamu omusaayi gwe ennaku nnyingi so nga si bye biro eby'okweyawula kwe, oba bw'anaavangamu omusaayi okusukkirira ebiro eby'okweyawula kwe; ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe anaabanga nga bw'aba mu nnaku ez'okweyawula kwe: oyo nga si mulongoofu. 03LEV015.026 Buli kitanda ky'anaasulangako ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi kinaabanga gy'ali ng'ekitanda eky'okweyawula kwe: era buli ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ng'obutali bulongoofu obw'okweyawula kwe. %%% Buli kitanda ky'anaasulangako ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi kinaabanga gy'ali ng'ekitanda eky'okweyawula kwe: era buli ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ng'obutali bulongoofu obw'okweyawula kwe. 03LEV015.027 Era buli anaakomanga ku ebyo anaabanga atali mulongoofu, n'ayoza engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. %%% Era buli anaakomanga ku ebyo anaabanga atali mulongoofu, n'ayoza engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 03LEV015.028 Naye bw'anaalongoosebwanga olw'omusaayi okumuvaamu, kale aneebaliranga ennaku musanvu, oluvannyuma n'alyoka aba omulongoofu. %%% Naye bw'anaalongoosebwanga olw'omusaayi okumuvaamu, kale aneebaliranga ennaku musanvu, oluvannyuma n'alyoka aba omulongoofu. 03LEV015.029 Awo ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, n'agatwalira kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. %%% Awo ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, n'agatwalira kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV015.030 Awo kabona anaawangayo erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'okuvaamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe. %%% Awo kabona anaawangayo erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'okuvaamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe. 03LEV015.031 Bwe mutyo bwe munaayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu bo. %%% Bwe mutyo bwe munaayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu bo. 03LEV015.032 Eryo lye tteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amaanyi, n'okufuula ne gamufuula atali mulongoofu; %%% Eryo lye tteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amaanyi, n'okufuula ne gamufuula atali mulongoofu; 03LEV015.033 era ery'omukazi alwadde olw'okweyawula kwe, era ery'omuziku, omusaja, era ery'omukazi, era ery'oyo asula n'omukazi atali mulongoofu. %%% era ery'omukazi alwadde olw'okweyawula kwe, era ery'omuziku, omusaja, era ery'omukazi, era ery'oyo asula n'omukazi atali mulongoofu. 03LEV016.001 And the LORD spake unto Moses after the death of the two sons of Aaron, when they offered before the LORD, and died; %%% Mukama n'ayogera ne Musa, batabani ba Alooni bombi nga bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa; 03LEV016.002 And the LORD said unto Moses, Speak unto Aaron thy brother, that he come not at all times into the holy place within the vail before the mercy seat, which is upon the ark; that he die not: for I will appear in the cloud upon the mercy seat. %%% Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja mu watukuvu munda w'eggigi buli biro, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku sanduuko; aleme okufa: kubanga naalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira. 03LEV016.003 Thus shall Aaron come into the holy place: with a young bullock for a sin offering, and a ram for a burnt offering. %%% Bino Alooni by'anajjanga nabyo mu watukuvu: ng'alina ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa. 03LEV016.004 He shall put on the holy linen coat, and he shall have the linen breeches upon his flesh, and shall be girded with a linen girdle, and with the linen mitre shall he be attired: these are holy garments; therefore shall he wash his flesh in water, and so put them on. %%% Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkufbira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala. 03LEV016.005 And he shall take of the congregation of the children of Israel two kids of the goats for a sin offering, and one ram for a burnt offering. %%% Awo anaatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa. 03LEV016.006 And Aaron shall offer his bullock of the sin offering, which is for himself, and make an atonement for himself, and for his house. %%% Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye. 03LEV016.007 And he shall take the two goats, and present them before the LORD at the door of the tabernacle of the congregation. %%% Awo anaatwalanga embuzi zombi, n'aziteeka mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 03LEV016.008 And Aaron shall cast lots upon the two goats; one lot for the LORD, and the other lot for the scapegoat. %%% Awo Alooni anaazikubiranga obululu embuzi zombi; akalulu akamu ka Mukama, n'akalulu ak'okubiri ka Azazeri. 03LEV016.009 And Aaron shall bring the goat upon which the LORD's lot fell, and offer him for a sin offering. %%% Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 03LEV016.010 But the goat, on which the lot fell to be the scapegoat, shall be presented alive before the LORD, to make an atonement with him, and to let him go for a scapegoat into the wilderness. %%% Naye embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneetekebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, okumutangirira, okugisindiikiriza eri Azazeri mu ddungu. 03LEV016.011 And Aaron shall bring the bullock of the sin offering, which is for himself, and shall make an atonement for himself, and for his house, and shall kill the bullock of the sin offering which is for himself: %%% Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo o1w'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye, n'atta ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe: 03LEV016.012 And he shall take a censer full of burning coals of fire from off the altar before the LORD, and his hands full of sweet incense beaten small, and bring it within the vail: %%% awo anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, n'abuleeta munda w'eggigi: 03LEV016.013 And he shall put the incense upon the fire before the LORD, that the cloud of the incense may cover the mercy seat that is upon the testimony, that he die not: %%% awo anaateekaaga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, aleme okufa: 03LEV016.014 And he shall take of the blood of the bullock, and sprinkle it with his finger upon the mercy seat eastward; and before the mercy seat shall he sprinkle of the blood with his finger seven times. %%% awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvanjuba; era anaamansiranga ku musaayi mu maaso g'entebe ey'okusaasira n'engalo ye emirundi musanvu. 03LEV016.015 Then shall he kill the goat of the sin offering, that is for the people, and bring his blood within the vail, and do with that blood as he did with the blood of the bullock, and sprinkle it upon the mercy seat, and before the mercy seat: %%% Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi, n'akola omusaayi gwayo nga bw'akoze omusaayi gw'ente ennume, n'agumansira ku ntebe ey'okusaasira, ne mu maaso g'entebe ey'okusaasira: 03LEV016.016 And he shall make an atonement for the holy place, because of the uncleanness of the children of Israel, and because of their transgressions in all their sins: and so shall he do for the tabernacle of the congregation, that remaineth among them in the midst of their uncleanness. %%% era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna: era bw'atyo bw'anaakolanga eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. 03LEV016.017 And there shall be no man in the tabernacle of the congregation when he goeth in to make an atonement in the holy place, until he come out, and have made an atonement for himself, and for his household, and for all the congregation of Israel. %%% So temubanga muntu mu weema ey'okusisinkanirangamu, bw'anaayingiranga okutangirira mu watukuvu, okutuusa lw'anaafulumanga, ng'amaze okwetangirira ye n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri. 03LEV016.018 And he shall go out unto the altar that is before the LORD, and make an atonement for it; and shall take of the blood of the bullock, and of the blood of the goat, and put it upon the horns of the altar round about. %%% Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira: n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna. 03LEV016.019 And he shall sprinkle of the blood upon it with his finger seven times, and cleanse it, and hallow it from the uncleanness of the children of Israel. %%% N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri. 03LEV016.020 And when he hath made an end of reconciling the holy place, and the tabernacle of the congregation, and the altar, he shall bring the live goat: %%% Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu: 03LEV016.021 And Aaron shall lay both his hands upon the head of the live goat, and confess over him all the iniquities of the children of Israel, and all their transgressions in all their sins, putting them upon the head of the goat, and shall send him away by the hand of a fit man into the wilderness: %%% awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu, n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese: 03LEV016.022 And the goat shall bear upon him all their iniquities unto a land not inhabited: and he shall let go the goat in the wilderness. %%% era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu: kale embuzi anaagiteeranga mu ddungu. 03LEV016.023 And Aaron shall come into the tabernacle of the congregation, and shall put off the linen garments, which he put on when he went into the holy place, and shall leave them there: %%% Awo Alooni anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo: 03LEV016.024 And he shall wash his flesh with water in the holy place, and put on his garments, and come forth, and offer his burnt offering, and the burnt offering of the people, and make an atonement for himself, and for the people. %%% awo anaanaabiranga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu. 03LEV016.025 And the fat of the sin offering shall he burn upon the altar. %%% N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto. 03LEV016.026 And he that let go the goat for the scapegoat shall wash his clothes, and bathe his flesh in water, and afterward come into the camp. %%% N'oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira. 03LEV016.027 And the bullock for the sin offering, and the goat for the sin offering, whose blood was brought in to make atonement in the holy place, shall one carry forth without the camp; and they shall burn in the fire their skins, and their flesh, and their dung. %%% N'ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwayo oguyingizibwa okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira; ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo. 03LEV016.028 And he that burneth them shall wash his clothes, and bathe his flesh in water, and afterward he shall come into the camp. %%% N'oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira. 03LEV016.029 And this shall be a statute for ever unto you: that in the seventh month, on the tenth day of the month, ye shall afflict your souls, and do no work at all, whether it be one of your own country, or a stranger that sojourneth among you: %%% Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: 03LEV016.030 For on that day shall the priest make an atonement for you, to cleanse you, that ye may be clean from all your sins before the LORD. %%% kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga Mukama. 03LEV016.031 It shall be a sabbath of rest unto you, and ye shall afflict your souls, by a statute for ever. %%% Olwo ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako gye muli, era munaabonerezanga emmeeme zammwe: lye tteeka ery'emirembe gyonna. 03LEV016.032 And the priest, whom he shall anoint, and whom he shall consecrate to minister in the priest's office in his father's stead, shall make the atonement, and shall put on the linen clothes, even the holy garments: %%% Era kabona, anaafukibwangako amafuta era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga era anaayambalanga ebyambalo ebya bafuta, ebyambalo ebitukuvu: 03LEV016.033 And he shall make an atonement for the holy sanctuary, and he shall make an atonement for the tabernacle of the congregation, and for the altar, and he shall make an atonement for the priests, and for all the people of the congregation. %%% era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina. 03LEV016.034 And this shall be an everlasting statute unto you, to make an atonement for the children of Israel for all their sins once a year. And he did as the LORD commanded Moses. %%% Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka. N'akola nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV017.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV017.002 Speak unto Aaron, and unto his sons, and unto all the children of Israel, and say unto them; This is the thing which the LORD hath commanded, saying, %%% Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti 03LEV017.003 What man soever there be of the house of Israel, that killeth an ox, or lamb, or goat, in the camp, or that killeth it out of the camp, %%% Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira, 03LEV017.004 And bringeth it not unto the door of the tabernacle of the congregation, to offer an offering unto the LORD before the tabernacle of the LORD; blood shall be imputed unto that man; he hath shed blood; and that man shall be cut off from among his people: %%% n'atagireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be: 03LEV017.005 To the end that the children of Israel may bring their sacrifices, which they offer in the open field, even that they may bring them unto the LORD, unto the door of the tabernacle of the congregation, unto the priest, and offer them for peace offerings unto the LORD. %%% abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama. 03LEV017.006 And the priest shall sprinkle the blood upon the altar of the LORD at the door of the tabernacle of the congregation, and burn the fat for a sweet savour unto the LORD. %%% Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV017.007 And they shall no more offer their sacrifices unto devils, after whom they have gone a whoring. This shall be a statute for ever unto them throughout their generations. %%% So tebakyawangayo ssaddaaka zaabwe eri embuzi ennume, ze bagoberera okwenda nazo. Eryo linaabanga tteeka gye bali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna. 03LEV017.008 And thou shalt say unto them, Whatsoever man there be of the house of Israel, or of the strangers which sojourn among you, that offereth a burnt offering or sacrifice, %%% Era onoobagamba nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, 03LEV017.009 And bringeth it not unto the door of the tabernacle of the congregation, to offer it unto the LORD; even that man shall be cut off from among his people. %%% n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be. 03LEV017.010 And whatsoever man there be of the house of Israel, or of the strangers that sojourn among you, that eateth any manner of blood; I will even set my face against that soul that eateth blood, and will cut him off from among his people. %%% Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; nnaateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be. 03LEV017.011 For the life of the flesh is in the blood: and I have given it to you upon the altar to make an atonement for your souls: for it is the blood that maketh an atonement for the soul. %%% Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu. 03LEV017.012 Therefore I said unto the children of Israel, No soul of you shall eat blood, neither shall any stranger that sojourneth among you eat blood. %%% Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi: 03LEV017.013 And whatsoever man there be of the children of Israel, or of the strangers that sojourn among you, which hunteth and catcheth any beast or fowl that may be eaten; he shall even pour out the blood thereof, and cover it with dust. %%% Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu. 03LEV017.014 For it is the life of all flesh; the blood of it is for the life thereof: therefore I said unto the children of Israel, Ye shall eat the blood of no manner of flesh: for the life of all flesh is the blood thereof: whosoever eateth it shall be cut off. %%% Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga. 03LEV017.015 And every soul that eateth that which died of itself, or that which was torn with beasts, whether it be one of your own country, or a stranger, he shall both wash his clothes, and bathe himself in water, and be unclean until the even: then shall he be clean. %%% Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulongoofu. 03LEV017.016 But if he wash them not, nor bathe his flesh; then he shall bear his iniquity. %%% Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukizivu bwe. 03LEV018.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV018.002 Speak unto the children of Israel, and say unto them, I am the LORD your God. %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV018.003 After the doings of the land of Egypt, wherein ye dwelt, shall ye not do: and after the doings of the land of Canaan, whither I bring you, shall ye not do: neither shall ye walk in their ordinances. %%% Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe. 03LEV018.004 Ye shall do my judgments, and keep mine ordinances, to walk therein: I am the LORD your God. %%% Emisango gyange gye muba mukolanga, n'amateeka gange ge muba mwekuumanga, okubitambulirangamu: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV018.005 Ye shall therefore keep my statutes, and my judgments: which if a man do, he shall live in them: I am the LORD. %%% Kale mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu olw'ebyo: nze Mukama. 03LEV018.006 None of you shall approach to any that is near of kin to him, to uncover their nakedness: I am the LORD. %%% Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okubikkula ku nsonyi ze: nze Mukama. 03LEV018.007 The nakedness of thy father, or the nakedness of thy mother, shalt thou not uncover: she is thy mother; thou shalt not uncover her nakedness. %%% Ensonyi za kitaawo, ze nsonyi za nnyoko, tozibikkulangako: ye nnyoko; tobikkulanga ku nsonyi ze. 03LEV018.008 The nakedness of thy father's wife shalt thou not uncover: it is thy father's nakedness.%%% Tobikkulanga ku nsonyi za musika wa nnyoko: ze nsonyi za kitaawo. 03LEV018.009 The nakedness of thy sister, the daughter of thy father, or daughter of thy mother, whether she be born at home, or born abroad, even their nakedness thou shalt not uncover. %%% Ensonyi za mwannyoko azaalibwa kitaawo, azaalibwa nnyoko, oba yazaalibwa waka, yazaalibwa walala, ensonyi zaabwe tozibikkulangako. 03LEV018.010 The nakedness of thy son's daughter, or of thy daughter's daughter, even their nakedness thou shalt not uncover: for theirs is thine own nakedness. %%% Ensonyi za muwala wa mutabani wo, oba muwala wa muwala wo, ensonyi zaabwe tozibikkulangako: kubanga ensonyi zaabwe ze zizo ggwe. 03LEV018.011 The nakedness of thy father's wife's daughter, begotten of thy father, she is thy sister, thou shalt not uncover her nakedness. %%% Ensonyi za muwala wa mukazi wa kitaawo, kitaawo gw'azaala, oyo mwannyoko, tobikkulanga ku nsonyi ze. 03LEV018.012 Thou shalt not uncover the nakedness of thy father's sister: she is thy father's near kinswoman. %%% Tobikkulanga ku nsonyi za ssenga wo: oyo wa buko ne kitaawo. 03LEV018.013 Thou shalt not uncover the nakedness of thy mother's sister: for she is thy mother's near kinswoman. %%% Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko: oyo wa buko ne nnyoko. 03LEV018.014 Thou shalt not uncover the nakedness of thy father's brother, thou shalt not approach to his wife: she is thine aunt. %%% Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa kitaawo, tosembereranga mukazi we: oyo ssenga wo. 03LEV018.015 Thou shalt not uncover the nakedness of thy daughter in law: she is thy son's wife; thou shalt not uncover her nakedness. %%% Tobikkulanga ku nsonyi za muka mwana wo: oyo muka mutabani wo; tobikkulanga ku nsonyi ze. 03LEV018.016 Thou shalt not uncover the nakedness of thy brother's wife: it is thy brother's nakedness. %%% Tobikkulanga ku nsonyi za muka muganda wo: ze nsonyi za muganda wo. 03LEV018.017 Thou shalt not uncover the nakedness of a woman and her daughter, neither shalt thou take her son's daughter, or her daughter's daughter, to uncover her nakedness; for they are her near kinswomen: it is wickedness. %%% Tobikkulanga ku nsonyi z'omukazi n'eza muwala we; totwalanga muwala wa mutabani we, newakubadde muwala wa muwala we, okubikkula ku nsonyi ze; abo ba buko: ekyo kibi. 03LEV018.018 Neither shalt thou take a wife to her sister, to vex her, to uncover her nakedness, beside the other in her life time. %%% So totwalanga mukazi wamu ne muganda we, okuba muggya we, okubikkula ku nsonyi ze, wamu ne munne, ye ng'akyali mulamu. 03LEV018.019 Also thou shalt not approach unto a woman to uncover her nakedness, as long as she is put apart for her uncleanness. %%% So tosembereranga mukazi okubikkula ku nsonyi ze, ng'akyayawulibwa olw'obutali bulongoofu bwe. 03LEV018.020 Moreover thou shalt not lie carnally with thy neighbour's wife, to defile thyself with her. %%% So tosulanga na muka muliraanwa wo, okweyonoona naye. 03LEV018.021 And thou shalt not let any of thy seed pass through the fire to Molech, neither shalt thou profane the name of thy God: I am the LORD. %%% So towangayo ku zzadde lyo okubayisa mu muliro eri Moleki, so tovumisanga linnya lya Katonda wo: nze Mukama. 03LEV018.022 Thou shalt not lie with mankind, as with womankind: it is abomination. %%% Tosulanga na basajja, nga bwe basula n'abakazi: ekyo kya muzizo. 03LEV018.023 Neither shalt thou lie with any beast to defile thyself therewith: neither shall any woman stand before a beast to lie down thereto: it is confusion. %%% So tosulanga na nsolo yonna, okweyonoona nayo: so n'omukazi yenna tayimiriranga mu maaso g'ensolo, okugalamira nayo: okwo kwe kutabula. 03LEV018.024 Defile not ye yourselves in any of these things: for in all these the nations are defiled which I cast out before you: %%% Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna: kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe: 03LEV018.025 And the land is defiled: therefore I do visit the iniquity thereof upon it, and the land itself vomiteth out her inhabitants. %%% n’ensi eyonoonese: kyenva ngiwalanako obutali butuukirivu bwayo, n'ensi esesemera ddala abagituulamu. 03LEV018.026 Ye shall therefore keep my statutes and my judgments, and shall not commit any of these abominations; neither any of your own nation, nor any stranger that sojourneth among you: %%% Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange, so temukolangako ku by'emizzo ebyo byonna byonna; newakubadde enzaalwa, newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: 03LEV018.027 (For all these abominations have the men of the land done, which were before you, and the land is defiled;) %%% (kubanga eby'emizizo ebyo byonna abasajja, ab'omu nsi baabikolanga, abaabasooka, n’ensi eyonoonese;) 03LEV018.028 That the land spue not you out also, when ye defile it, as it spued out the nations that were before you. %%% ensi ereme okubasesemera ddala nammwe, bwe mugyonoonanga, nga bwe yasesemera ddala eggwanga eryabasooka. 03LEV018.029 For whosoever shall commit any of these abominations, even the souls that commit them shall be cut off from among their people. %%% Kubanga omuntu yenna bw'anaakolanga kyonna ku by'emizizo ebyo, abantu abo abaabikola banasibwanga okubaggya mu bantu baabwe. 03LEV018.030 Therefore shall ye keep mine ordinance, that ye commit not any one of these abominable customs, which were committed before you, and that ye defile not yourselves therein: I am the LORD your God. %%% Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga yonna ku mpisa ezo ez'emizizo, ezaakolebwanga okusooka mmwe, n'obuteeyonoonanga n'ezo: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV019.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n’ayogera ne Musa nti 03LEV019.002 Speak unto all the congregation of the children of Israel, and say unto them, Ye shall be holy: for I the LORD your God am holy. %%% Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu. 03LEV019.003 Ye shall fear every man his mother, and his father, and keep my sabbaths: I am the LORD your God. %%% Mutyenga buli muntu nnyina ne kitaawe, era mwekuumenga ssabbiiti zange: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV019.004 Turn ye not unto idols, nor make to yourselves molten gods: I am the LORD your God. %%% Temukyukiranga bifaanaayi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV019.005 And if ye offer a sacrifice of peace offerings unto the LORD, ye shall offer it at your own will. %%% Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo era mukkirizibwe. 03LEV019.006 It shall be eaten the same day ye offer it, and on the morrow: and if ought remain until the third day, it shall be burnt in the fire. %%% Ku lunaku olwo lwe munaagiweeraagako kwe munaagiriiranga, ne ku lw'enkya: era ekintu kyonna bwe kinaafikkangako okutuusa ku lunaku olw'okusatu, kinaayokebwanga omuliro. 03LEV019.007 And if it be eaten at all on the third day, it is abominable; it shall not be accepted. %%% Era bwe kinaaliibwangako n'akatono ku lunaku olw'okusatu, kiba kya muzizo; tekikkirizibwenga: 03LEV019.008 Therefore every one that eateth it shall bear his iniquity, because he hath profaned the hallowed thing of the LORD: and that soul shall be cut off from among his people. %%% naye buli anaakiryangako anaabangako obutali butuukirivu bwe, kubanga avumisizza ekintu ekitukuvu ekya Mukama: era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be. 03LEV019.009 And when ye reap the harvest of your land, thou shalt not wholly reap the corners of thy field, neither shalt thou gather the gleanings of thy harvest. %%% Era bwe munaakungulanga ebikungulwa by'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tokuŋŋaaayanga ebyerebwa ku bikungulwa byo. 03LEV019.010 And thou shalt not glean thy vineyard, neither shalt thou gather every grape of thy vineyard; thou shalt leave them for the poor and stranger: I am the LORD your God. %%% So toyeranga mu lusuku lwo olw'emizabbibu, so tokuŋŋaanyanga bibala ebikunkumuka mu lusuku lwo olw'emizabbibu; onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV019.011 Ye shall not steal, neither deal falsely, neither lie one to another. %%% Temubbanga; so temulyazaamaanyanga, so temulimbagananga mwekka na mwekka. 03LEV019.012 And ye shall not swear by my name falsely, neither shalt thou profane the name of thy God: I am the LORD. %%% temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa n'ovumisa erinnya lya Katonda wo: nze Mukama. 03LEV019.013 Thou shalt not defraud thy neighbour, neither rob him: the wages of him that is hired shall not abide with thee all night until the morning. %%% Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga: empeera y'omusenze akolera empeera tosulanga ng'oli nayo okukeesa obudde. 03LEV019.014 Thou shalt not curse the deaf, nor put a stumblingblock before the blind, but shalt fear thy God: I am the LORD. %%% Tokolimiranga muggavu wa matu, so tomuteekerangawo nkonge omuzibe w'amaaso, naye onootyanga Katonda wo: nze Mukama. 03LEV019.015 Ye shall do no unrighteousness in judgment: thou shalt not respect the person of the poor, nor honor the person of the mighty: but in righteousness shalt thou judge thy neighbour. %%% Temusalanga misango egitali gya nsonga: tolowoozanga maaso ga mwavu, so tossangamu kitiibwa maaso ga wa maanyi: naye onoosaliranga muliraanwa wo emisango gya nsonga. 03LEV019.016 Thou shalt not go up and down as a talebearer among thy people: neither shalt thou stand against the blood of thy neighbour: I am the LORD. %%% Tobanga wa nnimi ng'otambulatambula mu bantu bo; so toyimiriranga kulumba musaayi gwa muliraanwa wo: nze Mukama. 03LEV019.017 Thou shalt not hate thy brother in thine heart: thou shalt in any wise rebuke thy neighbour, and not suffer sin upon him. %%% Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo: tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe. 03LEV019.018 Thou shalt not avenge, nor bear any grudge against the children of thy people, but thou shalt love thy neighbour as thyself: I am the LORD. %%% Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama. 03LEV019.019 Ye shall keep my statutes. Thou shalt not let thy cattle gender with a diverse kind: thou shalt not sow thy field with mingled seed: neither shall a garment mingled of linen and woollen come upon thee. %%% Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo ngeri ezitafaanana bumu: tosiganga mu nnimiro yo nsigo ey'engeri ebbiri: ekyambalo tekikubikkangako eky'engeri ebbiri ez'olugoye ezitabuddwa awamu. 03LEV019.020 And whosoever lieth carnally with a woman, that is a bondmaid, betrothed to an husband, and not at all redeemed, nor freedom given her; she shall be scourged; they shall not be put to death, because she was not free. %%% Era buli anaasulanga n'omukazi, naye nga muzaana, ng'aliko bba amwogereza, era nga tanunulwanga n'akatono, so nga taweebwanga ddembe; banaabonerezebwanga, tebattibwanga, kubanga teyali wa busa. 03LEV019.021 And he shall bring his trespass offering unto the LORD, unto the door of the tabernacle of the congregation, even a ram for a trespass offering. %%% Awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'omusango. 03LEV019.022 And the priest shall make an atonement for him with the ram of the trespass offering before the LORD for his sin which he hath done: and the sin which he hath done shall be forgiven him. %%% Awo kabona anaamutangirizanga endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; kale anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola. 03LEV019.023 And when ye shall come into the land, and shall have planted all manner of trees for food, then ye shall count the fruit thereof as uncircumcised: three years shall it be as uncircumcised unto you: it shall not be eaten of. %%% Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egiriibwako, ne mulyoka muyita ebibala byagyo obutakomolwa bwagyo: emyaka esatu binaabanga gye muli ng'ebitali bikomole tebiriibwangako. 03LEV019.024 But in the fourth year all the fruit thereof shall be holy to praise the LORD withal. %%% Naye mu mwaka ogw'okuna ebibala byayo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama. 03LEV019.025 And in the fifth year shall ye eat of the fruit thereof, that it may yield unto you the increase thereof: I am the LORD your God. %%% Ne mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala byayo, ebawe ekyengera kyayo: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV019.026 Ye shall not eat any thing with the blood: neither shall ye use enchantment, nor observe times. %%% Temulyanga kintu kyonna wamu n'omusaayi, so temuwanga ddogo, so temulagulanga. 03LEV019.027 Ye shall not round the corners of your heads, neither shalt thou mar the corners of thy beard. %%% Temumwanga nkiiya, so toyonoonanga nsonda za kirevu kyo. 03LEV019.028 Ye shall not make any cuttings in your flesh for the dead, nor print any marks upon you: I am the LORD. %%% Temwesalanga ku mubiri gwammwe olw'abafu, so temwesalangako bya buyonjo byonna: nze Mukama. 03LEV019.029 Do not prostitute thy daughter, to cause her to be a whore; lest the land fall to whoredom, and the land become full of wickedness. %%% Tovumisanga muwala wo, okumufuula omwenzi; ensi creme okugoberera obwenzi, ensi n'ejjula ekibi. 03LEV019.030 Ye shall keep my sabbaths, and reverence my sanctuary: I am the LORD. %%% Mwekuumenga ssabbiiti zange, era mutyenga awatukuvu wange: nze Mukama. 03LEV019.031 Regard not them that have familiar spirits, neither seek after wizards, to be defiled by them: I am the LORD your God. %%% Temukyukiranga abo abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga, okwonooneka olw'abo: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV019.032 Thou shalt rise up before the hoary head, and honour the face of the old man, and fear thy God: I am the LORD. %%% Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama. 03LEV019.033 And if a stranger sojourn with thee in your land, ye shall not vex him. %%% Era omugenyi bw'anaatuulanga naawe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi. 03LEV019.034 But the stranger that dwelleth with you shall be unto you as one born among you, and thou shalt love him as thyself; for ye were strangers in the land of Egypt: I am the LORD your God. %%% Omugenyi anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV019.035 Ye shall do no unrighteousness in judgment, in meteyard, in weight, or in measure. %%% Temukolanga ebitali bya butuukirivu okusala emisango, okupima emikono, okupimira mu minzaani, newakubadde okugera. 03LEV019.036 Just balances, just weights, a just ephah, and a just hin, shall ye have: I am the LORD your God, which brought you out of the land of Egypt. %%% Munaabanga ne minzaani ntuufu, n'ebigera bituufu, efa ntuufu, ne ini ntuufu: nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. 03LEV019.037 Therefore shall ye observe all my statutes, and all my judgments, and do them: I am the LORD. %%% Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: nze Mukama. 03LEV020.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV020.002 Again, thou shalt say to the children of Israel, Whosoever he be of the children of Israel, or of the strangers that sojourn in Israel, that giveth any of his seed unto Molech; he shall surely be put to death: the people of the land shall stone him with stones. %%% Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki: talemanga kuttibwa: abantu ab'omu nsi banaamukubanga amayinja. 03LEV020.003 And I will set my face against that man, and will cut him off from among his people; because he hath given of his seed unto Molech, to defile my sanctuary, and to profane my holy name. %%% Era nange naamwolekezanga amaaso gange omuntu oyo, ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, okwonoona awatukuvu wange, n'okuvumisa erinnya lyange ettukuvu. 03LEV020.004 And if the people of the land do any ways hide their eyes from the man, when he giveth of his seed unto Molech, and kill him not: %%% Era abantu ab'omu nsi bwe banaakisanga n'akatono amaaso gaabwe omuntu oyo, bw'anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, ne batamutta: 03LEV020.005 Then I will set my face against that man, and against his family, and will cut him off, and all that go a whoring after him, to commit whoredom with Molech, from among their people. %%% awo naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne baganda be, ne mmuzikiriza ye n'abo bonna abamugoberera okwenda, okwenda ne Moleki, okubaggya mu bantu baabwe. 03LEV020.006 And the soul that turneth after such as have familiar spirits, and after wizards, to go a whoring after them, I will even set my face against that soul, and will cut him off from among his people. %%% N'omuntu anaakyukiranga abo abasamira emizimu, n'abalogo, okubagoberera okwenda, naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be. 03LEV020.007 Sanctify yourselves therefore, and be ye holy: for I am the LORD your God. %%% Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV020.008 And ye shall keep my statutes, and do them: I am the LORD which sanctify you. %%% Era mwekuumenga amateeka gange, mugakolenga: nze Mukama abatukuza. 03LEV020.009 For every one that curseth his father or his mother shall be surely put to death: he hath cursed his father or his mother; his blood shall be upon him. %%% Kubanga buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa: ng'akolimidde kitaawe oba nnyina; omusaayi gwe gunaabanga ku ye. 03LEV020.010 And the man that committeth adultery with another man's wife, even he that committeth adultery with his neighbour's wife, the adulterer and the adulteress shall surely be put to death. %%% N'omuntu anaayendanga ku mukazi w'omusajja omulala, anaayendanga ku mukazi wa muliraanwa we, omwenzi omusajja n'omwenzi omukazi tebalemanga kuttibwa. 03LEV020.011 And the man that lieth with his father's wife hath uncovered his father's nakedness: both of them shall surely be put to death; their blood shall be upon them. %%% N'omusajja anaasulanga ne mukazi wa kitaawe, ng'abikudde ku nsonyi za kitaawe: bombi tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 03LEV020.012 And if a man lie with his daughter in law, both of them shall surely be put to death: they have wrought confusion; their blood shall be upon them. %%% Era omusajja bw'anaasulanga ne muka mwana we, bombi tebalemanga kuttibwa: nga bakoze okutabula; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 03LEV020.013 If a man also lie with mankind, as he lieth with a woman, both of them have committed an abomination: they shall surely be put to death; their blood shall be upon them. %%% Era omusajja bw'anaasulanga n'omusajja, nga bwe yandyebase n'abakazi, bombi nga bakoze eky'omuzizo: tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 03LEV020.014 And if a man take a wife and her mother, it is wickedness: they shall be burnt with fire, both he and they; that there be no wickedness among you. %%% Era omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kibi: banaayokebwanga omuliro ye nabo; muleme okuba ekibi mu mmwe. 03LEV020.015 And if a man lie with a beast, he shall surely be put to death: and ye shall slay the beast. %%% Era omusajja bw'anaasulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa: era munattanga ensolo eyo. 03LEV020.016 And if a woman approach unto any beast, and lie down thereto, thou shalt kill the woman, and the beast: they shall surely be put to death; their blood shall be upon them. %%% Era omukazi bw'anaasembereranga ensolo yonna, n'agalamira nayo, omuttanga omukazi oyo n'ensolo: tebiremanga kuttibwa; omusaayi gwabyo gunaabanga ku byo. 03LEV020.017 And if a man shall take his sister, his father's daughter, or his mother's daughter, and see her nakedness, and she see his nakedness; it is a wicked thing; and they shall be cut off in the sight of their people: he hath uncovered his sister's nakedness; he shall bear his iniquity. %%% Era omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina, n’alaba ensonyi ze, naye n'alaba ensonyi ze; kye kigambo eky'obuwemu; era banaazikirizibwanga mu maaso g'abaana b'abantu baabwe: ng'abikudde ku nsonyi za mwannyina; anaabangako obutali butuukirivu bwe. 03LEV020.018 And if a man shall lie with a woman having her sickness, and shall uncover her nakedness; he hath discovered her fountain, and she hath uncovered the fountain of her blood: and both of them shall be cut off from among their people. %%% Era omusajja bw'anaasulanga n'omukazi aliko endwadde ye, n'abikkula ku nsonyi ze; ng'afudde obwereere ensulo ye, naye ng'abikudde ku nsulo y'omusaayi gwe: awo bombi banaazikirizibwanga okuggibwa mu bantu baabwe. 03LEV020.019 And thou shalt not uncover the nakedness of thy mother's sister, nor of thy father's sister: for he uncovereth his near kin: they shall bear their iniquity. %%% So tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko; newakubadde eza mwannyina kitaawo: kubanga afudde obwereere ow'obuko: banaabangako obutali butuukirivu bwabwe. 03LEV020.020 And if a man shall lie with his uncle's wife, he hath uncovered his uncle's nakedness: they shall bear their sin; they shall die childless. %%% Era omusajja bw'anaasulanga ne mukazi wa kojja we, ng'abikudde ku nsonyi za kojja we: banaabangako ekibi kyabwe; balifa nga tebalina baana. 03LEV020.021 And if a man shall take his brother's wife, it is an unclean thing: he hath uncovered his brother's nakedness; they shall be childless. %%% Era omusajja bw'anaawasanga mukazi wa muganda we, bwe butali bulongoofu: ng'abikudde ku nsonyi za muganda we; tebaliba na baana. 03LEV020.022 Ye shall therefore keep all my statutes, and all my judgments, and do them: that the land, whither I bring you to dwell therein, spue you not out. %%% Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: ensi, gye mbayingizaamu okutuula omwo, eremenga okubasesemera ddala. 03LEV020.023 And ye shall not walk in the manners of the nation, which I cast out before you: for they committed all these things, and therefore I abhorred them. %%% So temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe: kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyenvudde mbakyawa. 03LEV020.024 But I have said unto you, Ye shall inherit their land, and I will give it unto you to possess it, a land that floweth with milk and honey: I am the LORD your God, which have separated you from other people. %%% Naye nabagamba mmwe nti Mulisikira ensi yaabwe, nange ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga. 03LEV020.025 Ye shall therefore put difference between clean beasts and unclean, and between unclean fowls and clean: and ye shall not make your souls abominable by beast, or by fowl, or by any manner of living thing that creepeth on the ground, which I have separated from you as unclean. %%% Kyemunaavanga mwawula ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi eteri nnongoofu n'ennongoofu: so temufuulanga mmeeme zammwe za mizizo olw'ensolo, oba olw'ennyonyi, oba olw'ekintu kyonna eky'ekulula ku nsi, bye nnayawula gye muli obutaba birongoofu: 03LEV020.026 And ye shall be holy unto me: for I the LORD am holy, and have severed you from other people, that ye should be mine. %%% Era munaabanga batukuvu gye ndi: kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nabaawula mu mawanga mubeere abange. 03LEV020.027 A man also or woman that hath a familiar spirit, or that is a wizard, shall surely be put to death: they shall stone them with stones: their blood shall be upon them. %%% Era omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, talemanga kuttibwa; banaabakubanga amayinja: omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 03LEV021.001 And the LORD said unto Moses, Speak unto the priests the sons of Aaron, and say unto them, There shall none be defiled for the dead among his people: %%% Mukama n'agamba Musa nti Yogera ne bakabona batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu eyeeyonoona olw'abo abaafa ku bantu be; 03LEV021.002 But for his kin, that is near unto him, that is, for his mother, and for his father, and for his son, and for his daughter, and for his brother, %%% wabula olwa baganda be, abamuli okumpi mu luganda, nnyina ne kitaawe ne mutabani we ne muwala we ne muganda we; 03LEV021.003 And for his sister a virgin, that is nigh unto him, which hath had no husband; for her may he be defiled. %%% n'olwa mwannyina atamanyanga musajja, amuli okumpi mu luganda, atalina bba, olw'oyo ayinza okweyonoona. 03LEV021.004 But he shall not defile himself, being a chief man among his people, to profane himself. %%% Tayonoonanga, bw'aba omukulu mu bantu be, okwevumisa. 03LEV021.005 They shall not make baldness upon their head, neither shall they shave off the corner of their beard, nor make any cuttings in their flesh. %%% Tebamwanga kiwalaata ku mutwe gwabwe, so tebamwanga nsonda za kirevu kyabwe, so tebeesalanga n'akatono ku mubiri gwabwe. 03LEV021.006 They shall be holy unto their God, and not profane the name of their God: for the offerings of the LORD made by fire, and the bread of their God, they do offer: therefore they shall be holy. %%% Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe: kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe: kyebanaavanga babeera abatukuvu. 03LEV021.007 They shall not take a wife that is a whore, or profane; neither shall they take a woman put away from her husband: for he is holy unto his God. %%% Tebawasanga mukazi mwenzi,oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we. 03LEV021.008 Thou shalt sanctify him therefore; for he offereth the bread of thy God: he shall be holy unto thee: for I the LORD, which sanctify you, am holy. %%% Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo: anaabanga mutukuvu gy'oli: kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu. 03LEV021.009 And the daughter of any priest, if she profane herself by playing the whore, she profaneth her father: she shall be burnt with fire. %%% Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwaaga omuliro. 03LEV021.010 And he that is the high priest among his brethren, upon whose head the anointing oil was poured, and that is consecrated to put on the garments, shall not uncover his head, nor rend his clothes; %%% N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu mu baganda be, afukibwako ku mutwe amafuta agafukibwako, era ayawulibwa okwambala ebyambalo ebyo, tasumululanga nviiri za ku mutwe gwe, so tayuzanga ngoye ze; 03LEV021.011 Neither shall he go in to any dead body, nor defile himself for his father, or for his mother; %%% so tayingiranga eri omulambo gwonna, so teyeeyonoonanga olwa kitaawe, newakubadde olwa nnyina; 03LEV021.012 Neither shall he go out of the sanctuary, nor profane the sanctuary of his God; for the crown of the anointing oil of his God is upon him: I am the LORD. %%% so tafulumanga mu watukuvu, so tavumisanga watukuvu wa Katonda we; kubanga engule ey'amafuta agafukibwako aga Katonda wegali ku ye: nze Mukama. 03LEV021.013 And he shall take a wife in her virginity. %%% Era anaawasanga omukazi nga tannamanya musajja. 03LEV021.014 A widow, or a divorced woman, or profane, or an harlot, these shall he not take: but he shall take a virgin of his own people to wife. %%% Nnamwandu oba eyagobebwa oba aliko empitambi, omwenzi, abo tabawasanga: naye omuwala atamanyanga musajja ow'oku bantu be gw'anaawasanga. 03LEV021.015 Neither shall he profane his seed among his people: for I the LORD do sanctify him. %%% So tavumisanga zzadde lye mu bantu be: kubanga nze ndi Mukama amutukuza. 03LEV021.016 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n’agamba Musa nti 03LEV021.017 Speak unto Aaron, saying, Whosoever he be of thy seed in their generations that hath any blemish, let him not approach to offer the bread of his God. %%% Gamba Alooni nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we. 03LEV021.018 For whatsoever man he be that hath a blemish, he shall not approach: a blind man, or a lame, or he that hath a flat nose, or any thing superfluous, %%% Kubanga buli muntu yenna anaabangako obulema tasemberanga: omuzibe w'amaaso oba awenyera oba eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekisukkirira, 03LEV021.019 Or a man that is brokenfooted, or brokenhanded, %%% oba eyamenyeka okugulu, oba eyamenyeka omukono, 03LEV021.020 Or crookbackt, or a dwarf, or that hath a blemish in his eye, or be scurvy, or scabbed, or hath his stones broken; %%% oba alina ebbango, oba mututuuli, oba aliko obulema ku liiso lye, oba alina obuwere, oba mubootongo, oba eyayatika enjagi; 03LEV021.021 No man that hath a blemish of the seed of Aaron the priest shall come nigh to offer the offerings of the LORD made by fire: he hath a blemish; he shall not come nigh to offer the bread of his God. %%% tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: ng'aliko obulema; tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we. 03LEV021.022 He shall eat the bread of his God, both of the most holy, and of the holy. %%% Anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu. 03LEV021.023 Only he shall not go in unto the vail, nor come nigh unto the altar, because he hath a blemish; that he profane not my sanctuaries: for I the LORD do sanctify them. %%% Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama atukuzaawo. 03LEV021.024 And Moses told it unto Aaron, and to his sons, and unto all the children of Israel. %%% Awo Musa n'agamba Alooni bw'atyo ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri. 03LEV022.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV022.002 Speak unto Aaron and to his sons, that they separate themselves from the holy things of the children of Israel, and that they profane not my holy name in those things which they hallow unto me: I am the LORD. %%% Gamba Alooni ne batabani be, beewalenga ebintu ebitukuvu eby'abaana ba Isiraeri, bye batukuza gye ndi, era balemenga okuvumisa erinnya lyange ettukuvu: nze Mukama. 03LEV022.003 Say unto them, Whosoever he be of all your seed among your generations, that goeth unto the holy things, which the children of Israel hallow unto the LORD, having his uncleanness upon him, that soul shall be cut off from my presence: I am the LORD. %%% Bagambe nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye batukuza eri Mukama, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu maaso gange: nze Mukama. 03LEV022.004 What man soever of the seed of Aaron is a leper, or hath a running issue; he shall not eat of the holy things, until he be clean. And whoso toucheth any thing that is unclean by the dead, or a man whose seed goeth from him; %%% Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni aliko ebigenge oba alina enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa lw'aliba omulongoofu. Era buli anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu olw'abafu, oba omuntu avaamu amaanyi; 03LEV022.005 Or whosoever toucheth any creeping thing, whereby he may be made unclean, or a man of whom he may take uncleanness, whatsoever uncleanness he hath; %%% oba buli anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, obutali bulongoofu bwonna bwaliko; 03LEV022.006 The soul which hath touched any such shall be unclean until even, and shall not eat of the holy things, unless he wash his flesh with water. %%% obulamu obwo obunaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'anaabye omubiri gwe mu mazzi. 03LEV022.007 And when the sun is down, he shall be clean, and shall afterward eat of the holy things; because it is his food. %%% Awo enjuba ng'egudde, anaabanga mulongoofu; oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga gwe mugaati gwe. 03LEV022.008 That which dieth of itself, or is torn with beasts, he shall not eat to defile himself therewith: I am the LORD. %%% Ekinaafanga kyokka, oba ekinaataagulwataagulwanga ensolo, talyangako okweyonoona nakyo: nze Mukama. 03LEV022.009 They shall therefore keep mine ordinance, lest they bear sin for it, and die therefore, if they profane it: I the LORD do sanctify them. %%% Kyebanaavanga beekuuma kye nnabateresa, balemenga okubaako ekibi olw'ekyo, ne bafiira mu kyo bwe banaakivumisanga: nze ndi Mukama abatukuza. 03LEV022.010 There shall no stranger eat of the holy thing: a sojourner of the priest, or an hired servant, shall not eat of the holy thing. %%% Tewabangawo mugenyi anaalyanga ku kintu ekitukuvu: omuyise ali ne kabona, oba omusenze akolera empeera, talyanga ku kintu ekitukuvu. 03LEV022.011 But if the priest buy any soul with his money, he shall eat of it, and he that is born in his house: they shall eat of his meat. %%% Naye kabona bw'anaagulanga obulamu bwonna, agulibwa n'ebintu bye, oyo anaalyangako; n'abo abazaalirwa mu nnyumba ye, abo banaalyanga ku mugaati gwe. 03LEV022.012 If the priest's daughter also be married unto a stranger, she may not eat of an offering of the holy things. %%% Era muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omugenyi, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu. 03LEV022.013 But if the priest's daughter be a widow, or divorced, and have no child, and is returned unto her father's house, as in her youth, she shall eat of her father's meat: but there shall no stranger eat thereof. %%% Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga mu buto bwe, anaalyanga ku mugaati gwa kitaawe: naye tewabangawo mugenyi anaalyanga ku gwo. 03LEV022.014 And if a man eat of the holy thing unwittingly, then he shall put the fifth part thereof unto it, and shall give it unto the priest with the holy thing. %%% Era omuntu bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tamanyiridde, kale anaakigattangako ekitundu kyakyo eky'okutaano, n'awa kabona ekintu ekitukuvu. 03LEV022.015 And they shall not profane the holy things of the children of Israel, which they offer unto the LORD; %%% So tebavumisanga bintu bitukuvu bya baana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama; 03LEV022.016 Or suffer them to bear the iniquity of trespass, when they eat their holy things: for I the LORD do sanctify them. %%% ne babaleetako (bwe batyo) obutali butuukirivu obuleeta omusango, bwe balya ku bintu byabwe ebitukuvu: kubanga nze ndi Mukama abatukuza. 03LEV022.017 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV022.018 Speak unto Aaron, and to his sons, and unto all the children of Israel, and say unto them, Whatsoever he be of the house of Israel, or of the strangers in Israel, that will offer his oblation for all his vows, and for all his freewill offerings, which they will offer unto the LORD for a burnt offering; %%% Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti Buli muntu yenna ow'oku nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone lye, bwe kinaabanga obweyamo bwabwe bwonna, oba ekiweebwayo kyonna kye bawaayo ku bwabwe, kye bawaayo eri Mukama okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 03LEV022.019 Ye shall offer at your own will a male without blemish, of the beeves, of the sheep, or of the goats. %%% (munaawangayo) ennume eteriiko bulema ku nte, ku ndiga, oba ku mbuzi, mulyoke mukkirizibwe. 03LEV022.020 But whatsoever hath a blemish, that shall ye not offer: for it shall not be acceptable for you. %%% Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo: kubanga tekiibenga kya kukkirizibwa ku lwammwe. 03LEV022.021 And whosoever offereth a sacrifice of peace offerings unto the LORD to accomplish his vow, or a freewill offering in beeves or sheep, it shall be perfect to be accepted; there shall be no blemish therein. %%% Era buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba okuba ky'awaayo ku bubwe, ku nte oba ku mbuzi, eneebanga ntuukirivu eryoke ekkirizibwe; tebangako bulema. 03LEV022.022 Blind, or broken, or maimed, or having a wen, or scurvy, or scabbed, ye shall not offer these unto the LORD, nor make an offering by fire of them upon the altar unto the LORD. %%% Enzibe y'amaaso, oba emmenyefu, oba ennema, oba eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, so temubifuulanga ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama ku kyoto. 03LEV022.023 Either a bullock or a lamb that hath any thing superfluous or lacking in his parts, that mayest thou offer for a freewill offering; but for a vow it shall not be accepted. %%% Oba ente oba omwana gw'endiga eriko ekintu kyonna ekisukkirira oba ekitatuuka mu bitundu byayo, eyo oyinza okuwaayo okuba ky'owaayo ku bubwo: naye okuba obweyamo tekkirizibwenga. 03LEV022.024 Ye shall not offer unto the LORD that which is bruised, or crushed, or broken, or cut; neither shall ye make any offering thereof in your land. %%% Eyabetentebwa enjagi zaayo, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ezo, temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe. 03LEV022.025 Neither from a stranger's hand shall ye offer the bread of your God of any of these; because their corruption is in them, and blemishes be in them: they shall not be accepted for you. %%% So ne mu mukono gwa munnaggwanga temuwangayo mugaati gwa Katonda wammwe ogugendera ku ezo zonna; kubanga okwonooneka kwazo kuli mu zo, ziriko obulema: tezikkirizibwenga ku lwammwe. 03LEV022.026 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV022.027 When a bullock, or a sheep, or a goat, is brought forth, then it shall be seven days under the dam; and from the eighth day and thenceforth it shall be accepted for an offering made by fire unto the LORD. %%% Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okukirawo enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV022.028 And whether it be cow or ewe, ye shall not kill it and her young both in one day. %%% Era bw'eba ente oba ndiga, temugittanga yo n'omwana waayo byombi ku lunaku lumu. 03LEV022.029 And when ye will offer a sacrifice of thanksgiving unto the LORD, offer it at your own will. %%% Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe. 03LEV022.030 On the same day it shall be eaten up; ye shall leave none of it until the morrow: I am the LORD. %%% Eneeriirwanga ku lunaku olwo; temugisigazangako okutuusa enkya: nze Mukama. 03LEV022.031 Therefore shall ye keep my commandments, and do them: I am the LORD. %%% Kyemunaavanga mwekuuma ebiragiro byange, ne mubikola: nze Mukama. 03LEV022.032 Neither shall ye profane my holy name; but I will be hallowed among the children of Israel: I am the LORD which hallow you, %%% So temuvumisanga linnya lyange ttukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri: nze Mukama abatukuza, 03LEV022.033 That brought you out of the land of Egypt, to be your God: I am the LORD. %%% eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuba Katonda wammwe: nze Mukama. 03LEV023.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV023.002 Speak unto the children of Israel, and say unto them, Concerning the feasts of the LORD, which ye shall proclaim to be holy convocations, even these are my feasts. %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Embaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu, zino ze mbaga zange endagire. 03LEV023.003 Six days shall work be done: but the seventh day is the sabbath of rest, an holy convocation; ye shall do no work therein: it is the sabbath of the LORD in all your dwellings. %%% Ennaku omukaaga zinaakolerwangako omulimu: naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombekerako, okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna: olwo ssabbiiti eri Mukama mu nnyumba zammwe zonna. 03LEV023.004 These are the feasts of the LORD, even holy convocations, which ye shall proclaim in their seasons.%%% Zino ze mbaga endagire eza Mukama, kwe kukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo endagire. 03LEV023.005 In the fourteenth day of the first month at even is the LORD's passover. %%% Mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, kwe Kuyitako kwa Mukama. 03LEV023.006 And on the fifteenth day of the same month is the feast of unleavened bread unto the LORD: seven days ye must eat unleavened bread. %%% Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eri Mukama: munaaliiranga ennaku musanvu emigaati egitazimbulukuswa. 03LEV023.007 In the first day ye shall have an holy convocation: ye shall do no servile work therein. %%% Ku lunaku olw'olubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono. 03LEV023.008 But ye shall offer an offering made by fire unto the LORD seven days: in the seventh day is an holy convocation: ye shall do no servile work therein. %%% Naye munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; te mukolanga mulimu gwa mikono. 03LEV023.009 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV023.010 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When ye be come into the land which I give unto you, and shall reap the harvest thereof, then ye shall bring a sheaf of the firstfruits of your harvest unto the priest: %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, ne mulyokanga muleeta ekinywa eky'ebibereberye eby'ebikungulwa byammwe eri kabona: 03LEV023.011 And he shall wave the sheaf before the LORD, to be accepted for you: on the morrow after the sabbath the priest shall wave it. %%% naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, okukkirizibwa ku lwammwe: ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti kabona kw'anaakiwuubirawuubiranga. 03LEV023.012 And ye shall offer that day when ye wave the sheaf an he lamb without blemish of the first year for a burnt offering unto the LORD. %%% Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 03LEV023.013 And the meat offering thereof shall be two tenth deals of fine flour mingled with oil, an offering made by fire unto the LORD for a sweet savour: and the drink offering thereof shall be of wine, the fourth part of an hin. %%% N'ekiweebwayo kyako eky'obutta kinaabanga ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama okuba evvumbe eddungi: n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa kinaabanga kya nvinnyo, ekitundu eky'okuna ekya ini. 03LEV023.014 And ye shall eat neither bread, nor parched corn, nor green ears, until the selfsame day that ye have brought an offering unto your God: it shall be a statute for ever throughout your generations in all your dwellings. %%% So temulyanga mugaati newakubadde eŋŋaano ensiike newakubadde ebirimba ebibisi, okutuusa olunaku olwo, okutuusa lwe munaamalanga okuleeta ekitone kya Katonda wammwe: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna. 03LEV023.015 And ye shall count unto you from the morrow after the sabbath, from the day that ye brought the sheaf of the wave offering; seven sabbaths shall be complete: %%% Era muneebaliranga okuva ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti, okuva ku lunaku kwe mwaleetera ekinywa eky'ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa; wanaabangawo ssabbiiti musanvu ennamba: 03LEV023.016 Even unto the morrow after the seventh sabbath shall ye number fifty days; and ye shall offer a new meat offering unto the LORD. %%% okutuusa olw'enkya oluddirira ssabbiiti ey'omusanvu munaabalanga ennaku ataano: awo munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama. 03LEV023.017 Ye shall bring out of your habitations two wave loaves of two tenth deals: they shall be of fine flour; they shall be baken with leaven; they are the firstfruits unto the LORD. %%% Munaafulumyanga mu nnyumba zammwe emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu ebibiri eby'ekkumi ebya efa: ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n'ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama. 03LEV023.018 And ye shall offer with the bread seven lambs without blemish of the first year, and one young bullock, and two rams: they shall be for a burnt offering unto the LORD, with their meat offering, and their drink offerings, even an offering made by fire, of sweet savour unto the LORD. %%% Era munaaleetanga wamu n'emigaati abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema abatannamala mwaka gumu, n'ente ento emu, n'endiga ennume bbiri: zinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 03LEV023.019 Then ye shall sacrifice one kid of the goats for a sin offering, and two lambs of the first year for a sacrifice of peace offerings. %%% Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'abaana b'endiga abalume babiri abatannamala mwaka gumu okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe. 03LEV023.020 And the priest shall wave them with the bread of the firstfruits for a wave offering before the LORD, with the two lambs: they shall be holy to the LORD for the priest. %%% Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi: binaabanga bitukuvu eri Mukama bya kabona. 03LEV023.021 And ye shall proclaim on the selfsame day, that it may be an holy convocation unto you: ye shall do no servile work therein: it shall be a statute for ever in all your dwellings throughout your generations.%%% Era munaalangiranga ku lunaku olwo; wanaabangawo okukuŋŋana okutukuvu gye muli: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lye tteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna mu mirembe gyammwe gyonna. 03LEV023.022 And when ye reap the harvest of your land, thou shalt not make clean riddance of the corners of thy field when thou reapest, neither shalt thou gather any gleaning of thy harvest: thou shalt leave them unto the poor, and to the stranger: I am the LORD your God. %%% Era bwe munaakungulanga ebikungulwa eby'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tolondanga ebyerebwa eby'ebikungulwa byo: onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV023.023 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV023.024 Speak unto the children of Israel, saying, In the seventh month, in the first day of the month, shall ye have a sabbath, a memorial of blowing of trumpets, an holy convocation. %%% Gamba abaana ba Isiraeri nti Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka gye muli, ekijjukizo eky'okufuuwa amakondeere, okukuŋŋaana okutukuvu. 03LEV023.025 Ye shall do no servile work therein: but ye shall offer an offering made by fire unto the LORD. %%% Temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV023.026 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV023.027 Also on the tenth day of this seventh month there shall be a day of atonement: it shall be an holy convocation unto you; and ye shall afflict your souls, and offer an offering made by fire unto the LORD. %%% Naye ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu lwe lunaku olw'okutangiririrako: lunaabanga kukuŋŋaana kutukuvu gye muli, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe; era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV023.028 And ye shall do no work in that same day: for it is a day of atonement, to make an atonement for you before the LORD your God. %%% So temukolanga mulimu gwonna ku luaaku olwo: kubanga lwe lunaku olw'okutangiririrako, okubatangirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. 03LEV023.029 For whatsoever soul it be that shall not be afflicted in that same day, he shall be cut off from among his people. %%% Kubanga buli bulamu bwonna obutaabonerezebwenga ku lunaku olwo, anaazikirizibwanga mu bantu be. 03LEV023.030 And whatsoever soul it be that doeth any work in that same day, the same soul will I destroy from among his people. %%% Era buli bulamu bwonna obunaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo, obulamu obwo naabuzikirizanga mu bantu be. 03LEV023.031 Ye shall do no manner of work: it shall be a statute for ever throughout your generations in all your dwellings. %%% Temukolanga mulimu gwonna: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna. 03LEV023.032 It shall be unto you a sabbath of rest, and ye shall afflict your souls: in the ninth day of the month at even, from even unto even, shall ye celebrate your sabbath. %%% Lunaabanga gye muli ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe: ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi akawungeezi, okusooka akawungeezi okutuusa akawungeezi, muneekuumanga ssabbiiti yammwe. 03LEV023.033 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n’agamba Musa nti 03LEV023.034 Speak unto the children of Israel, saying, The fifteenth day of this seventh month shall be the feast of tabernacles for seven days unto the LORD. %%% Gamba abaana ba Isiraeri nti Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira okumala ennaku musanvu eri Mukama. 03LEV023.035 On the first day shall be an holy convocation: ye shall do no servile work therein. %%% Ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono. 03LEV023.036 Seven days ye shall offer an offering made by fire unto the LORD: on the eighth day shall be an holy convocation unto you; and ye shall offer an offering made by fire unto the LORD: it is a solemn assembly; and ye shall do no servile work therein. %%% Munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; nammwe munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kwe kukuŋŋaana okukulu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono. 03LEV023.037 These are the feasts of the LORD, which ye shall proclaim to be holy convocations, to offer an offering made by fire unto the LORD, a burnt offering, and a meat offering, a sacrifice, and drink offerings, every thing upon his day: %%% Ezo ze mbaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu okuwangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, kinnakimu ku lunaku lwakyo: 03LEV023.038 Beside the sabbaths of the LORD, and beside your gifts, and beside all your vows, and beside all your freewill offerings, which ye give unto the LORD. %%% obutassaako ssabbiiti za Mukama, n'ebirabo byammwe, n'obweyamo bwammwe bwonna, n'ebyo byonna bye muwaayo ku bwammwe, bye muwa Mukama. 03LEV023.039 Also in the fifteenth day of the seventh month, when ye have gathered in the fruit of the land, ye shall keep a feast unto the LORD seven days: on the first day shall be a sabbath, and on the eighth day shall be a sabbath. %%% Naye ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga ok'ukungula ebibala by'ensi, muneekuumiranga embaga ya Mukama ennaku musanvu: ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka. 03LEV023.040 And ye shall take you on the first day the boughs of goodly trees, branches of palm trees, and the boughs of thick trees, and willows of the brook; and ye shall rejoice before the LORD your God seven days. %%% Era ku lunaku olw'olubereberye muneetwaliranga ebibala by'emiti emirungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, n'emiti egy'oku migga; era munaasanyukiranga ennaku musanvu mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. 03LEV023.041 And ye shall keep it a feast unto the LORD seven days in the year. It shall be a statute for ever in your generations: ye shall celebrate it in the seventh month. %%% Era munaagyekuumiranga okuba embaga eri Mukama ennaku musanvu buli mwaka: lye tteka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe: munaagyekuumiranga mu mwezi ogw'omusanvu. 03LEV023.042 Ye shall dwell in booths seven days; all that are Israelites born shall dwell in booths: %%% Munaamalanga ennaku musanvu mu nsiisira: enzaalwa bonna ab'omu Isiraeri banaatuulanga mu nsiisira: 03LEV023.043 That your generations may know that I made the children of Israel to dwell in booths, when I brought them out of the land of Egypt: I am the LORD your God. %%% emirembe gyammwe giryoke gimanyenga nga natuuza abaana ba Isiraeri mu nsiisira, bwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV023.44 And Moses declared unto the children of Israel the feasts of the LORD. %%% Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga endagire eza Mukama. 03LEV024.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV024.002 Command the children of Israel, that they bring unto thee pure oil olive beaten for the light, to cause the lamps to burn continually. %%% Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi aga zeyituuni amakube olw'ettabaaza, okwasanga ettabaaza olutata. 03LEV024.003 Without the vail of the testimony, in the tabernacle of the congregation, shall Aaron order it from the evening unto the morning before the LORD continually: it shall be a statute for ever in your generations. %%% Ebweru w'eggigi ery'obujulirwa, mu weema ey'okusisinkanirangamu, Alooni w'anaagirongooserezanga okusooka akawungeezi okutuusa enkya mu maaso ga Mukama olutata: linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. 03LEV024.004 He shall order the lamps upon the pure candlestick before the LORD continually. %%% Ettabaaza anaazirongooserezanga ku kikondo ekirongoofu mu maaso ga Mukama olutata. 03LEV024.005 And thou shalt take fine flour, and bake twelve cakes thereof: two tenth deals shall be in one cake. %%% Era onoddiranga obutta obulungi, n'oggyamu emigaati kkumi n'ebiri emyokye: ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa binaabanga mu mugaati gumu. 03LEV024.006 And thou shalt set them in two rows, six on a row, upon the pure table before the LORD. %%% Era onoogitegekanga embu bbiri, buli lubu mukaaga, ku mmeeza ennongoofu mu maaso ga Mukama. 03LEV024.007 And thou shalt put pure frankincense upon each row, that it may be on the bread for a memorial, even an offering made by fire unto the LORD. %%% Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 03LEV024.008 Every sabbath he shall set it in order before the LORD continually, being taken from the children of Israel by an everlasting covenant. %%% Buli ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri. 03LEV024.009 And it shall be Aaron's and his sons'; and they shall eat it in the holy place: for it is most holy unto him of the offerings of the LORD made by fire by a perpetual statute. %%% Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu: kubanga mitukuvu nnyo gyali ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo. 03LEV024.010 And the son of an Israelitish woman, whose father was an Egyptian, went out among the children of Israel: and this son of the Israelitish woman and a man of Israel strove together in the camp; %%% Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri: mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira; 03LEV024.011 And the Israelitish woman's son blasphemed the name of the Lord, and cursed. And they brought him unto Moses: (and his mother's name was Shelomith, the daughter of Dibri, of the tribe of Dan:) %%% mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya n'akolima; ne bamuleetera Musa. Ne nnyina erinnya lye Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani. 03LEV024.012 And they put him in ward, that the mind of the LORD might be shewed them. %%% Ne bamusiba belyoke babuulirwe mu kamwa ka Mukama. 03LEV024.013 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV024.014 Bring forth him that hath cursed without the camp; and let all that heard him lay their hands upon his head, and let all the congregation stone him. %%% Oyo akolimye mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja. 03LEV024.015 And thou shalt speak unto the children of Israel, saying, Whosoever curseth his God shall bear his sin. %%% Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaakolimiranga Katonda we anaabangako ekibi kye. 03LEV024.016 And he that blasphemeth the name of the LORD, he shall surely be put to death, and all the congregation shall certainly stone him: as well the stranger, as he that is born in the land, when he blasphemeth the name of the Lord, shall be put to death. %%% N'oyo anavvoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja: omugenyi naye era n'enzaalwa, bw'anawoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga. 03LEV024.017 And he that killeth any man shall surely be put to death. %%% N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa; 03LEV024.018 And he that killeth a beast shall make it good; beast for beast. %%% n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga: obulamu olw'obulamu. 03LEV024.019 And if a man cause a blemish in his neighbour; as he hath done, so shall it be done to him; %%% Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo; 03LEV024.020 Breach for breach, eye for eye, tooth for tooth: as he hath caused a blemish in a man, so shall it be done to him again. %%% ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo: nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo. 03LEV024.021 And he that killeth a beast, he shall restore it: and he that killeth a man, he shall be put to death. %%% N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga: n'oyo anattanga omuntu anattibwanga. 03LEV024.022 Ye shall have one manner of law, as well for the stranger, as for one of your own country: for I am the LORD your God. %%% Munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV024.023 And Moses spake to the children of Israel, that they should bring forth him that had cursed out of the camp, and stone him with stones. And the children of Israel did as the LORD commanded Moses. %%% Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira; ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. 03LEV025.001 And the LORD spake unto Moses in mount Sinai, saying, %%% Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi nti 03LEV025.002 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When ye come into the land which I give you, then shall the land keep a sabbath unto the LORD. %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, ensi n'eryokanga yeekuuma ssabbiiti eri Mukama. 03LEV025.003 Six years thou shalt sow thy field, and six years thou shalt prune thy vineyard, and gather in the fruit thereof; %%% Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliriranga emyaka mukaaga, n'okungula ebibala byalwo; 03LEV025.004 But in the seventh year shall be a sabbath of rest unto the land, a sabbath for the LORD: thou shalt neither sow thy field, nor prune thy vineyard. %%% naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako eri ensi, ssabbiiti eri Mukama: tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo. 03LEV025.005 That which groweth of its own accord of thy harvest thou shalt not reap, neither gather the grapes of thy vine undressed: for it is a year of rest unto the land. %%% Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga: gunaabanga mwaka gwa kuwummula okw'okwewombeeka eri ensi. 03LEV025.006 And the sabbath of the land shall be meat for you; for thee, and for thy servant, and for thy maid, and for thy hired servant, and for thy stranger that sojourneth with thee, %%% Era ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe; 03LEV025.007 And for thy cattle, and for the beast that are in thy land, shall all the increase thereof be meat. %%% n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya. 03LEV025.008 And thou shalt number seven sabbaths of years unto thee, seven times seven years; and the space of the seven sabbaths of years shall be unto thee forty and nine years. %%% Era oneebaliranga ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda. 03LEV025.009 Then shalt thou cause the trumpet of the jubile to sound on the tenth day of the seventh month, in the day of atonement shall ye make the trumpet sound throughout all your land. %%% Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna. 03LEV025.010 And ye shall hallow the fiftieth year, and proclaim liberty throughout all the land unto all the inhabitants thereof: it shall be a jubile unto you; and ye shall return every man unto his possession, and ye shall return every man unto his family. %%% Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano, ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze. 03LEV025.011 A jubile shall that fiftieth year be unto you: ye shall not sow, neither reap that which groweth of itself in it, nor gather the grapes in it of thy vine undressed. %%% Omwaka ogwo ogw'ataano gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire. 03LEV025.012 For it is the jubile; it shall be holy unto you: ye shall eat the increase thereof out of the field. %%% Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro. 03LEV025.013 In the year of this jubile ye shall return every man unto his possession. %%% Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe. 03LEV025.014 And if thou sell ought unto thy neighbour, or buyest ought of thy neighbour's hand, ye shall not oppress one another: %%% Era bw'onooguzanga muliraanwa wo ekintu kyonna, oba by'onoogulanga mu mukono gwa muliraanwa wo, temulyazaamaanyagananga: 03LEV025.015 According to the number of years after the jubile thou shalt buy of thy neighbour, and according unto the number of years of the fruits he shall sell unto thee: %%% ng'omuwendo gw'emyaka bwe guli egiddiridde jjubiri, bw'onoogulaananga ne muliraanwa wo, era ng'omuwendo gw'emyaka egy'ebikungulwa bwe guli bw'anaakuguzanga. 03LEV025.016 According to the multitude of years thou shalt increase the price thereof, and according to the fewness of years thou shalt diminish the price of it: for according to the number of the years of the fruits doth he sell unto thee. %%% Ng'emyaka bwe ginenkananga obungi bw'onooyongera bw'otyo ku muwendo gwakyo, era ng'emyaka bwe ginenkananga obutono bw'onoosalanga bw'otyo ku muwendo gwakyo; kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gw'akuguza. 03LEV025.017 Ye shall not therefore oppress one another; but thou shalt fear thy God:for I am the LORD your God. %%% So temulyazaamaanyagananga; naye otyanga Katonda wo: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV025.018 Wherefore ye shall do my statutes, and keep my judgments, and do them; and ye shall dwell in the land in safety. %%% Kye munaavanga mukola amateeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era munaatuulanga mu nsi mirembe. 03LEV025.019 And the land shall yield her fruit, and ye shall eat your fill, and dwell therein in safety. %%% Era ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga okukkuta, ne mutuula omwo mirembe. 03LEV025.020 And if ye shall say, What shall we eat the seventh year? behold, we shall not sow, nor gather in our increase: %%% Era bwe munaayogeranga nti Tulirya ki mu mwaka ogw'omusanvu? laba, tetulisiga, so tetulikungula kyengera kyaffe: 03LEV025.021 Then I will command my blessing upon you in the sixth year, and it shall bring forth fruit for three years. %%% kale naalagiranga omukisa gwange okubeera ku mmwe mu mwaka ogw'omukaaga, era gunaabalanga ebibala eby'emyaka gyonsatule. 03LEV025.022 And ye shall sow the eighth year, and eat yet of old fruit until the ninth year; until her fruits come in ye shall eat of the old store. %%% Era munaasiganga mu mwaka gw'omunaana, ne mulya ku bibala ebyaterekebwa edda; okutuusa ku mwaka ogw'omwenda, ebibala byayo lwe birituuka, munaalyanga ku byaterekebwa edda. 03LEV025.023 The land shall not be sold for ever: for the land is mine; for ye are strangers and sojourners with me.%%% So ensi tetundibwanga okugiviiramu ddala ennaku zonna; kubanga ensi yange: kubanga muli bagenyi era abayise gye ndi. 03LEV025.024 And in all the land of your possession ye shall grant a redemption for the land. %%% Ne mu nsi yonna ey'obutaka bwammwe munakkirizanga ensi okununulibwa. 03LEV025.025 If thy brother be waxen poor, and hath sold away some of his possession, and if any of his kin come to redeem it, then shall he redeem that which his brother sold. %%% Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze. 03LEV025.026 And if the man have none to redeem it, and himself be able to redeem it; %%% Era omuntu bw'atabangako anaakinunula, era ng'agaggawadde n'alaba ebinaamala okukinunula; 03LEV025.027 Then let him count the years of the sale thereof, and restore the overplus unto the man to whom he sold it; that he may return unto his possession. %%% awo abalenga emyaka gye kyatundirwamu n'addiza ebisukkiriddemu amuntu gwe yakiguza; naye anaddanga mu butaka bwe. 03LEV025.028 But if he be not able to restore it to him, then that which is sold shall remain in the hand of him that hath bought it until the year of jubile: and in the jubile it shall go out, and he shall return unto his possession. %%% Naye bw'aba nga tayinza kukyeddiza, kale ekyo kye yatunda kinaabeeranga mu mukono gw'oyo eyakigula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: awo kinaagenderanga mu jjubiri, naye anaddanga mu butaka bwe. 03LEV025.029 And if a man sell a dwelling house in a walled city, then he may redeem it within a whole year after it is sold; within a full year may he redeem it. %%% Era omuntu bw'atundanga ennyumba ey'okutuulamu mu kibuga ekiriko bbugwe, kale anaayinzanga okuginunula omwaka omulamba nga tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okununula. 03LEV025.030 And if it be not redeemed within the space of a full year, then the house that is in the walled city shall be established for ever to him that bought it throughout his generations: it shall not go out in the jubile. %%% Era bw'eteenunulirwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula okuba eyiye ennaku zonna, mu mirembe gye gyonna: tegenderanga mu jjubiri. 03LEV025.031 But the houses of the villages which have no wall round about them shall be counted as the fields of the country: they may be redeemed, and they shall go out in the jubile. %%% Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalirwanga wamu n'ennimiro ez'omu byalo: zinaayinzikanga okununulibwa, era zinaagenderanga mu jjubiri. 03LEV025.032 Notwithstanding the cities of the Levites, and the houses of the cities of their possession, may the Levites redeem at any time. %%% Naye ebibuga eby'Abaleevi, ennyumba ez'omu bibuga eby'obutaka bwabwe, Abaleevi banaayinzanga okuzinunula mu biro byonna. 03LEV025.033 And if a man purchase of the Levites, then the house that was sold, and the city of his possession, shall go out in the year of jubile: for the houses of the cities of the Levites are their possession among the children of Israel. %%% Era omu ku Baleevi bw'anaanunulanga, kale ennyumba eyatundibwa, n'ekibuga eky'obutaka bwe, binaagenderanga mu jjubiri: kubanga ennyumba ez'omu bibuga eby'Abaleevi bwe butaka bwabwe mu baana ba Isiraeri. 03LEV025.034 But the field of the suburbs of their cities may not be sold; for it is their perpetual possession. %%% Naye ennimiro ey'omu byalo ebiriraanye ebibuga byabwe tetundibwanga; kubanga bwe butaka bwabwe olw'ennaku zonna. 03LEV025.035 And if thy brother be waxen poor, and fallen in decay with thee; then thou shalt relieve him: yea, though he be a stranger, or a sojourner; that he may live with thee. %%% Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, omukono gwe ne guggwaamu amaanyi gy'oli; kale onoomuyambanga: anaatuulanga naawe ng'omugenyi era ng'omuwaŋŋanguse. 03LEV025.036 Take thou no usury of him, or increase: but fear thy God; that thy brother may live with thee. %%% Tomutwalangako magoba newakubadde ebisukkirira; naye otyanga Katonda wo: muganda wo alyoke atuulenga naawe. 03LEV025.037 Thou shalt not give him thy money upon usury, nor lend him thy victuals for increase. %%% Tomuwolanga bintu byo lwa magoba, so tomuwanga byakulya byo olw'ebisukkirira. 03LEV025.038 I am the LORD your God, which brought you forth out of the land of Egypt, to give you the land of Canaan, and to be your God. %%% Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, okuba Katonda wammwe. 03LEV025.039 And if thy brother that dwelleth by thee be waxen poor, and be sold unto thee; thou shalt not compel him to serve as a bondservant: %%% Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde gy'oli, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga: 03LEV025.040 But as an hired servant, and as a sojourner, he shall be with thee, and shall serve thee unto the year of jubile: %%% anaabeeranga name ng'omusenze akolera empeera era ng'omuwaŋŋanguse; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: 03LEV025.041 And then shall he depart from thee, both he and his children with him, and shall return unto his own family, and unto the possession of his fathers shall he return. %%% n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be awamu naye, n'adda mu nda ze ye, ne mu butaka bwa bakitaawe mw'anaddiranga. 03LEV025.042 For they are my servants, which I brought forth out of the land of Egypt: they shall not be sold as bondmen. %%% Kubanga baddu bange, be nnaggya mu nsi y'e Misiri: tebatundibwanga okuba abaddu. 03LEV025.043 Thou shalt not rule over him with rigour; but shalt fear thy God. %%% Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo. 03LEV025.044 Both thy bondmen, and thy bondmaids, which thou shalt have, shall be of the heathen that are round about you; of them shall ye buy bondmen and bondmaids. %%% N'abaddu bo, n'abazaana bo, b'onoobanga nabo; ku mawanga agabeetoolodde, ku abo kwe munaagulanga abaddu n'abazaana. 03LEV025.045 Moreover of the children of the strangers that do sojourn among you, of them shall ye buy, and of their families that are with you, which they begat in your land: and they shall be your possession. %%% Era ku baana b'abagenyi abatuula mu mmwe, ku abo kwe munaagulanga ne ku ŋŋanda zaabwe eziri nammwe, be baazaalira mu nsi yammwe: nabo banaabanga nvuma zammwe. 03LEV025.046 And ye shall take them as an inheritance for your children after you, to inherit them for a possession; they shall be your bondmen for ever: but over your brethren the children of Israel, ye shall not rule one over another with rigour. %%% Era munaabafuulanga obusika eri abaana bammwe abanaabaddiriranga okuba nabo okuba envuma; ku abo kwe munaatwalanga abaddu bammwe ennaku zonna: naye baganda bammwe abaana ba Isiraeri temubafuganga mwekka na mwekka lwa maanyi. 03LEV025.047 And if a sojourner or stranger wax rich by thee, and thy brother that dwelleth by him wax poor, and sell himself unto the stranger or sojourner by thee, or to the stock of the stranger's family: %%% Era omugenyi oba muwaŋŋanguse ali naawe bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde gy'ali, ne yeetunda eri omugenyi oba muwagganguse ali naawe, oba eri olukolo lw'enda z'omuwaŋŋanguse: 03LEV025.048 After that he is sold he may be redeemed again; one of his brethren may redeem him: %%% bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa; omu ku baganda be anaayinzanga okumununula: 03LEV025.049 Either his uncle, or his uncle's son, may redeem him, or any that is nigh of kin unto him of his family may redeem him; or if he be able, he may redeem himself. %%% oba kojja we, oba mutabani wa kojja we, anaayinzanga okumununula; oba omuntu yenna ku nda ze amuli okumpi mu luganda anaayinzanga okumununula oba bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula yekka. 03LEV025.050 And he shall reckon with him that bought him from the year that he was sold to him unto the year of jubile: and the price of his sale shall be according unto the number of years, according to the time of an hired servant shall it be with him. %%% Era anaabaliranga oyo eyamugula okuva ku mwaka mwe yeetundira gy'ali okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: n'omuwendo ogw'okutundibwa kwe gunaabanga ng'omuwendo gw'emyaka bwe gunaabanga; ng'ebiro eby'omusenze akolera empeera bwe biri bw'atyo bw'anaabanga naye. 03LEV025.051 If there be yet many years behind, according unto them he shall give again the price of his redemption out of the money that he was bought for. %%% Oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mingi, ng'egyo bwe giri bw'anazzanga bw'atyo ku muwendo ogw'okununulibwa kwe ng'aguggya ku bintu ebyamugula. 03LEV025.052 And if there remain but few years unto the year of jubile, then he shall count with him, and according unto his years shall he give him again the price of his redemption. %%% Era oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mitono okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, kale anaamubaliranga; ng'emyaka gye bwe giri bw'anazzanga bw'atyo omuwendo ogw'okununulibwa kwe. 03LEV025.053 And as a yearly hired servant shall he be with him: and the other shall not rule with rigour over him in thy sight. %%% Anaabanga naye ng'omusenze akolera empeera buli mwaka: tamufuganga lwa maanyi mu maaso go. 03LEV025.054 And if he be not redeemed in these years, then he shall go out in the year of jubile, both he, and his children with him. %%% Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaagenderanga mu mwaka gwa jjubiri, ye n'abaana be awamu naye. 03LEV025.055 For unto me the children of Israel are servants; they are my servants whom I brought forth out of the land of Egypt: I am the LORD your God. %%% Kubanga abaana ba Isiraeri baddu gye ndi; be baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV026.001 Ye shall make you no idols nor graven image, neither rear you up a standing image, neither shall ye set up any image of stone in your land, to bow down unto it: for I am the LORD your God. %%% Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, okulivuunamiranga: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 03LEV026.002 Ye shall keep my sabbaths, and reverence my sanctuary: I am the LORD. %%% Mwekuumanga ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: nze Mukama. 03LEV026.003 If ye walk in my statutes, and keep my commandments, and do them; %%% Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola; 03LEV026.004 Then I will give you rain in due season, and the land shall yield her increase, and the trees of the field shall yield their fruit. %%% kale naawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. 03LEV026.005 And your threshing shall reach unto the vintage, and the vintage shall reach unto the sowing time: and ye shall eat your bread to the full, and dwell in your land safely. %%% N'okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n'okunoga kunaatuukanga ku biro eby'okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe. 03LEV026.006 And I will give peace in the land, and ye shall lie down, and none shall make you afraid: and I will rid evil beasts out of the land, neither shall the sword go through your land. %%% Nange naawanga emirembe mu nsi, era munaagalamiranga so tewaabenga anaabatiisanga: era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so n'ekitala tekiiyitenga mu nsi yammwe. 03LEV026.007 And ye shall chase your enemies, and they shall fall before you by the sword. %%% Nammwe munaagobanga abalabe bammwe, era bannagwanga mu maaso gammwe n'ekitala. 03LEV026.008 And five of you shall chase an hundred, and an hundred of you shall put ten thousand to flight: and your enemies shall fall before you by the sword. %%% Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga akakumi: n'abalabe bammwe banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala. 03LEV026.009 For I will have respect unto you, and make you fruitful, and multiply you, and establish my covenant with you. %%% Era naabassangako omwoyo, ne mbazaalisa, ne mbaaza; era naanywezanga endagaano yange nammwe. 03LEV026.010 And ye shall eat old store, and bring forth the old because of the new. %%% Era munaalyanga ku byaterekebwa edda ebyaludde, era munaafulumyanga eby'edda olw'ebiggya. 03LEV026.011 And I will set my tabernacle among you: and my soul shall not abhor you. %%% Era naateekanga ennyumba yange mu mmwe: n'obulamu bwange tebuubakyawenga. 03LEV026.012 And I will walk among you, and will be your God, and ye shall be my people. %%% Era naatambuliranga mu mmwe ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. 03LEV026.013 I am the LORD your God, which brought you forth out of the land of Egypt, that ye should not be their bondmen; and I have broken the bands of your yoke, and made you go upright. %%% Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era mmenye ebisiba eby'ekikoligo kyammwe, ne mbatambuza nga mwesimbye. 03LEV026.014 But if ye will not hearken unto me, and will not do all these commandments; %%% Naye bwe mutampulirenga ne mutakola biragiro bino byonna: 03LEV026.015 And if ye shall despise my statutes, or if your soul abhor my judgments, so that ye will not do all my commandments, but that ye break my covenant: %%% era bwe munaagaananga amateeka gange, n'obulamu bwammwe bwe bunaakyawanga emisango gyange, n'obutakola ne mutakolznga biragiro byange byonna, naye ne muleka endagaano yange: 03LEV026.016 I also will do this unto you; I will even appoint over you terror, consumption, and the burning ague, that shall consume the eyes, and cause sorrow of heart: and ye shall sow your seed in vain, for your enemies shall eat it. %%% nange naabakolanga bwe nti; naalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, akakono n'omusujja, ebinaamalangamu amaaso, ne bikoozimbya obulamu: era munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga. 03LEV026.017 And I will set my face against you, and ye shall be slain before your enemies: they that hate you shall reign over you; and ye shall flee when none pursueth you. %%% Era naaboolekezanga amaaso gange, nammwe munaakubibwanga mu maaso g'abalabe bammwe: ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali agoba. 03LEV026.018 And if ye will not yet for all this hearken unto me, then I will punish you seven times more for your sins. %%% Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, kale ndyeyongera emirundi musanvu okubabonereza olw'ebibi byammwe. 03LEV026.019 And I will break the pride of your power; and I will make your heaven as iron, and your earth as brass: %%% Era naamenyanga amalala ag'obuyinza bwammwe; era naafuulanga eggulu lyammwe okuba ng'ekyuma, n'ettaka lyammwe okuba ng'ekikomo: 03LEV026.020 And your strength shall be spent in vain: for your land shall not yield her increase, neither shall the trees of the land yield their fruits. %%% n'amaanyi gammwe ganaagenderanga busa: kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo. 03LEV026.021 And if ye walk contrary unto me, and will not hearken unto me; I will bring seven times more plagues upon you according to your sins. %%% Era bwe munaatambuliranga mu kuyomba nange, ne mutampulira; ndyeyongeranga emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga. 03LEV026.022 I will also send wild beasts among you, which shall rob you of your children, and destroy your cattle, and make you few in number; and your high ways shall be desolate. %%% Era naasindikanga mu mmwe ensolo ey'omu nsiko, eneebanyagangako abaana bammwe, era eneezikirizanga ebisibo byammwe, era eneebakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga: 03LEV026.023 And if ye will not be reformed by me by these things, but will walk contrary unto me; %%% Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange; 03LEV026.024 Then will I also walk contrary unto you, and will punish you yet seven times for your sins. %%% kale nange naatambuliranga mu kuyomba nammwe; era naabakubanga emirundi musanvu, nze mwene, olw'ebibi byammwe. 03LEV026.025 And I will bring a sword upon you, that shall avenge the quarrel of my covenant: and when ye are gathered together within your cities, I will send the pestilence among you; and ye shall be delivered into the hand of the enemy. %%% Era naabaleetangako ekitala, ekinaawalananga eggwanga ery'endagaano; era munaakuŋŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byammwe: era naasindikanga kawumpuli ku mmwe; era munaagabulwanga mu mukono gw'omulabe. 03LEV026.026 And when I have broken the staff of your bread, ten women shall bake your bread in one oven, and they shall deliver you your bread again by weight: and ye shall eat, and not be satisfied. %%% Bwe nnaamenyanga omuggo gwammwe ogw'omugaati, abakazi kkumi banaayokeranga emigaati gyammwe mu kabiga kamu, era banazzanga nate emigaati gyammwe nga bagipimye mu minzani: era munaalyanga ne mutakutta. 03LEV026.027 And if ye will not for all this hearken unto me, but walk contrary unto me; %%% Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange; 03LEV026.028 Then I will walk contrary unto you also in fury; and I, even I, will chastise you seven times for your sins. %%% kale naatambuliranga mu kuyomba nammwe mu kiruyi; era naababonerezanga emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. 03LEV026.029 And ye shall eat the flesh of your sons, and the flesh of your daughters shall ye eat. %%% Era munaalyanga ennyama ya batabani bammwe, n'ennyama ya bawala bammwe gye munaalyanga. 03LEV026.030 And I will destroy your high places, and cut down your images, and cast your carcases upon the carcases of your idols, and my soul shall abhor you.%%% Era naazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba, ne nsuula emirambo gyammwe ku mirambo gy'ebifaananyi byammwe; n'obulamu bwange bunaabakyawanga. 03LEV026.031 And I will make your cities waste, and bring your sanctuaries unto desolation, and I will not smell the savour of your sweet odours. %%% Era naazisanga ebibuga byammwe, era naafuulanga awatukuvu wammwe malungu, so siiwulirenga lusu lw'akaloosa kammwe. 03LEV026.032 And I will bring the land into desolation: and your enemies which dwell therein shall be astonished at it. %%% Era naafuulanga ensi ddungu: n'abalabe bammwe abagituulamu banaagyewuunyanga. 03LEV026.033 And I will scatter you among the heathen, and will draw out a sword after you: and your land shall be desolate, and your cities waste. %%% Nammwe naabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera: n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga. 03LEV026.034 Then shall the land enjoy her sabbaths, as long as it lieth desolate, and ye be in your enemies' land; even then shall the land rest, and enjoy her sabbaths. %%% Awo ensi n'eryokanga esanyukira ssabbiiti zaayo, ennaku zonna z'eneezikiranga nammwe nga muli mu nsi y'abalabe bammwe; awo ensi n'eryokanga ewummula n'esanyukira ssabbiiti zaayo. 03LEV026.035 As long as it lieth desolate it shall rest; because it did not rest in your sabbaths, when ye dwelt upon it. %%% Ennaku zonna z'eneezikiranga eneewummulanga; okuwummula okwo kw'etabanga nakwo ku ssabbiiti zammwe nga mukyalimu. 03LEV026.036 And upon them that are left alive of you I will send a faintness into their hearts in the lands of their enemies; and the sound of a shaken leaf shall chase them; and they shall flee, as fleeing from a sword; and they shall fall when none pursueth. %%% N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, naasindikanga obutabaamu mwoyo mu mutima gwabwe mu nsi z'abalabe baabwe: n'eddoboozi ly'akasubi akamenyeka linaabagobanga; era banaddukanga ng'omuntu bw'adduka ekitala; era banaagwanga nga tewali agoba. 03LEV026.037 And they shall fall one upon another, as it were before a sword, when none pursueth: and ye shall have no power to stand before your enemies. %%% Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka ekitala, nga tewali agoba: so temuubenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe. 03LEV026.038 And ye shall perish among the heathen, and the land of your enemies shall eat you up. %%% Era munaazikiriranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe bammwe eneebalyanga. 03LEV026.039 And they that are left of you shall pine away in their iniquity in your enemies' lands; and also in the iniquities of their fathers shall they pine away with them. %%% N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakoozimbiranga mu butali butuukirivu bwabwe mu nsi z'abalabe bammwe; era ne mu butali butuukirivu bwa bajjajja baabwe mwe banaakoozimbiranga wamu nabo. 03LEV026.040 If they shall confess their iniquity, and the iniquity of their fathers, with their trespass which they trespassed against me, and that also they have walked contrary unto me; %%% Era banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe, n'obutali bu tuukirivu bwa bajjajja baabwe, mu kusobya kwabwe kwe bansobyako, era nga tebaatambula nange, 03LEV026.041 And that I also have walked contrary unto them, and have brought them into the land of their enemies; if then their uncircumcised hearts be humbled, and they then accept of the punishment of their iniquity: %%% era nga kyennaava ntambulira nange mu kuyomba nabo ne mbaleeta mu nsi y'abalabe baabwe, kubanga baatambulira mu kuyomba nange: kale omutima gwabwe ogutali mukomole bwe gunaatoowazibwanga, kale ne bakkiriza okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe; 03LEV026.042 Then will I remember my covenant with Jacob, and also my covenant with Isaac, and also my covenant with Abraham will I remember; and I will remember the land. %%% awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo; era n'endagaano gye nnalagaana ne Isaaka, era n'endagaano yange gye nnalagaana ne Ibulayimu naagijjukiranga: era najjukiranga ensi. 03LEV026.043 The land also shall be left of them, and shall enjoy her sabbaths, while she lieth desolate without them: and they shall accept of the punishment of their iniquity: because, even because they despised my judgments, and because their soul abhorred my statutes. %%% Era ensi banaagirekanga, n'esanyukira ssabbiiti zaayo, ng'ekyazise bo nga tebaliimu; era banakkirizanga okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe: kubanga baagaana emisango gyange, eyo ye nsonga, n'obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange. 03LEV026.044 And yet for all that, when they be in the land of their enemies, I will not cast them away, neither will I abhor them, to destroy them utterly, and to break my covenant with them: for I am the LORD their God. %%% Era naye ebyo byonna nga bimaze okubaawo, bwe banaabanga nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, siibagaanenga, so siibakyawenga, okubazikiririza ddala, n'okuleka endagaano yange gye nnalagaana nabo: kubanga nze Mukama Katonda waabwe: 03LEV026.045 But I will for their sakes remember the covenant of their ancestors, whom I brought forth out of the land of Egypt in the sight of the heathen, that I might be their God: I am the LORD. %%% naye najjukiranga ku lwabwe endagaano ya bajjajja baabwe, be nnaggya mu nsi y'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: nze Mukama. 03LEV026.046 These are the statutes and judgments and laws, which the LORD made between him and the children of Israel in mount Sinai by the hand of Moses. %%% Ago ge mateeka n'emisango n'ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi n'omukono gwa Musa. 03LEV027.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 03LEV027.002 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When a man shall make a singular vow, the persons shall be for the LORD by thy estimation. %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omuntu bw'anaatuukirizanga obweyamo, emibiri ginaabanga gya Mukama ng'okubala kwo bwe kunaabanga. 03LEV027.003 And thy estimation shall be of the male from twenty years old even unto sixty years old, even thy estimation shall be fifty shekels of silver, after the shekel of the sanctuary. %%% N'okubala kwo okw'omusajja eyaakamaze emyaka abiri okutuusa ku myaka enkaaga, okubala kwo kunaabanga sekeri za ffeeza ataano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri. 03LEV027.004 And if it be a female, then thy estimation shall be thirty shekels. %%% Era bw'anaabanga ow'obuwala, kale okubala kwo kunaabanga sekeri asatu. 03LEV027.005 And if it be from five years old even unto twenty years old, then thy estimation shall be of the male twenty shekels, and for the female ten shekels. %%% Era bw'anaabanga yaakamaze emyaka etaano okutuusa ku myaka abiri, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri abiri, n'okw'ow'obuwala sekeri kkumi. 03LEV027.006 And if it be from a month old even unto five years old, then thy estimation shall be of the male five shekels of silver, and for the female thy estimation shall be three shekels of silver. %%% Era bw'anaabanga yaakamaze mwezi gumu okutuusa ku myaka etaano, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri za ffeeza ttaano, n'okubala kwo okw'ow'obuwala kunaabanga sekeri za ffeeza ssatu. 03LEV027.007 And if it be from sixty years old and above; if it be a male, then thy estimation shall be fifteen shekels, and for the female ten shekels. %%% Era bw'anaabanga yaakamaze emyaka enkaaga n'okukirawo; bw'anaabanga omusajja, kale okubala kwo kunaabanga sekeri kkumi na ttaano, n'okw'omukazi sekeri kkumi. 03LEV027.008 But if he be poorer than thy estimation, then he shall present himself before the priest, and the priest shall value him; according to his ability that vowed shall the priest value him. %%% Naye bw'anaabanga omwavu okusinga okubala kwo, kale anaayimirizibwanga mu maaso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo; ng'obuyinza bw'oyo eyeeyama bwe bunaabanga, bw'atyo kabona bw'anaamusaliranga. 03LEV027.009 And if it be a beast, whereof men bring an offering unto the LORD, all that any man giveth of such unto the LORD shall be holy. %%% Era bw'eneebanga ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekirabo eri Mukama, byonna omuntu yenna by'anaawangayo ku ezo eri Mukama binaabanga bitukuvu. 03LEV027.010 He shall not alter it, nor change it, a good for a bad, or a bad for a good: and if he shall at all change beast for beast, then it and the exchange thereof shall be holy. %%% Tagikyusanga so tagiwaanyisanga, ekirungi mu kifo ky'ekibi, oba ekibi mu kifo ky'ekirungi: n'okuwaanyisa bw'anaawaanyisanga ensolo n'ensolo, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu. 03LEV027.011 And if it be any unclean beast, of which they do not offer a sacrifice unto the LORD, then he shall present the beast before the priest: %%% Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekitone eri Mukama, awo anaayimirizanga ensolo mu maaso ga kabona: 03LEV027.012 And the priest shall value it, whether it be good or bad: as thou valuest it, who art the priest, so shall it be. %%% kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga ggwe kabona bw'onoogiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo. 03LEV027.013 But if he will at all redeem it, then he shall add a fifth part thereof unto thy estimation. %%% Naye okununula bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kyayo eky'okutaano ku bintu by'olamudde. 03LEV027.014 And when a man shall sanctify his house to be holy unto the LORD, then the priest shall estimate it, whether it be good or bad: as the priest shall estimate it, so shall it stand. %%% Era omuntu bw'anaatukuzanga ennyumba ye okuba entukuvu eri Mukama, kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga kabona bw'anaagiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo. 03LEV027.015 And if he that sanctified it will redeem his house, then he shall add the fifth part of the money of thy estimation unto it, and it shall be his. %%% Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu by'olamudde, n'eba yiye. 03LEV027.016 And if a man shall sanctify unto the LORD some part of a field of his possession, then thy estimation shall be according to the seed thereof: an homer of barley seed shall be valued at fifty shekels of silver. %%% Era omuntu bw'anaatukuzanga eri Mukama ekitundu ky'ennimiro y'obutaka bwe, kale okulamula kwo kunaabanga ng'okusigibwa kwayo bwe kunaabanga okusiga kwa komeri ogwa sayiri kunaalamulwanga sekeri eza ffeeza ataano. 03LEV027.017 If he sanctify his field from the year of jubile, according to thy estimation it shall stand. %%% Bw'anaatukuzanga ennimiro ye okuva ku mwaka gwa jjubiri, eneebanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga. 03LEV027.018 But if he sanctify his field after the jubile, then the priest shall reckon unto him the money according to the years that remain, even unto the year of the jubile, and it shall be abated from thy estimation. %%% Naye bw'anaatukuzanga ennimiro ye jjubiri nga guweddeko, kale kabona anaamubaliranga ebintu ng'emyaka bwe giri egikyasigaddeyo okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, ne bakendeeza ku bintu bye walamula. 03LEV027.019 And if he that sanctified the field will in any wise redeem it, then he shall add the fifth part of the money of thy estimation unto it, and it shall be assured to him. %%% N'okununula oyo eyatukuza ennimiro bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu bye walamula, n'efuukira ddala yiye. 03LEV027.020 And if he will not redeem the field, or if he have sold the field to another man, it shall not be redeemed any more. %%% Era bw'ataayagalenga kununula nnimiro, oba bw'aba ng'aguzizza ennimiro omulala, tekyanunulibwanga nate; 03LEV027.021 But the field, when it goeth out in the jubile, shall be holy unto the LORD, as a field devoted; the possession thereof shall be the priest's. %%% naye ennimiro bw'eneegenderanga mu jjubiri, eneebanga ntukuvu eri Mukama, ng'ennimiro eyawongebwa; eneebanga ya kabona ya nvuma. 03LEV027.022 And if a man sanctify unto the LORD a field which he hath bought, which is not of the fields of his possession; %%% Era bw'anaatukuzanga eri Mukama ennimiro gye yagula, eteri ya mu nnimiro ya butaka bwe; 03LEV027.023 Then the priest shall reckon unto him the worth of thy estimation, even unto the year of the jubile: and he shall give thine estimation in that day, as a holy thing unto the LORD. %%% kale kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ebintu bye walamula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: era anaawanga ebintu bye walamula ku lunaku olwo, ng'ekintu ekitukuvu eri Mukama. 03LEV027.024 In the year of the jubile the field shall return unto him of whom it was bought, even to him to whom the possession of the land did belong. %%% Mu mwaka gwa jjubiri ennimiro eneddanga eri oyo eyagitunda, ye nannyini butaka obw'ennimiro. 03LEV027.025 And all thy estimations shall be according to the shekel of the sanctuary: twenty gerahs shall be the shekel. %%% N'okulamula kwo kwonna kunaabanga nga sekeri bw'eri ey'omu watukuvu: gera amakumi abiri zinaabanga sekeri. 03LEV027.026 Only the firstling of the beasts, which should be the LORD's firstling, no man shall sanctify it; whether it be ox, or sheep: it is the LORD's. %%% Wabula eggula enda mu nsolo, ebeera eya Mukama eggula enda, tewabangawo anaagitukuzanga; oba nga nte, oba nga ndiga, eba ya Mukama. 03LEV027.027 And if it be of an unclean beast, then he shall redeem it according to thine estimation, and shall add a fifth part of it thereto: or if it be not redeemed, then it shall be sold according to thy estimation. %%% Era bw'eneebanga ya ku nsolo eteri nnongoofu, kale anaaginunulanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga, n'agattako ekitundu kyako eky'okutaano: oba bw'eteenunulibwenga, kale eneetundibwanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga. 03LEV027.028 Notwithstanding no devoted thing, that a man shall devote unto the LORD of all that he hath, both of man and beast, and of the field of his possession, shall be sold or redeemed: every devoted thing is most holy unto the LORD. %%% Naye tewabanga kiatu ekyawongebwa, omuntu ky'anaawongeranga Mukama ku byonna by'alina, oba nga muntu oba nga nsolo, oba nga nnimiro ya butaka bwe, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga: buli kintu ekyawongebwa kiba kitukuvu nnyo eri Mukama. 03LEV027.029 None devoted, which shall be devoted of men, shall be redeemed; but shall surely be put to death. %%% Tewabanga eyawongebwa, anaawongebwanga ku bantu, anaanunulibwanga; talemanga kuttibwa. 03LEV027.030 And all the tithe of the land, whether of the seed of the land, or of the fruit of the tree, is the LORD's: it is holy unto the LORD. %%% Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama: biba bitukuvu eri Mukama. 03LEV027.031 And if a man will at all redeem ought of his tithes, he shall add thereto the fifth part thereof. %%% Era omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby'ekkumi, anaagattangako ekitundu kyabyo eky'okutaano. 03LEV027.032 And concerning the tithe of the herd, or of the flock, even of whatsoever passeth under the rod, the tenth shall be holy unto the LORD. %%% Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama. 03LEV027.033 He shall not search whether it be good or bad, neither shall he change it: and if he change it at all, then both it and the change thereof shall be holy; it shall not be redeemed. %%% Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga: n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu: tenunulibwanga. 03LEV027.034 These are the commandments, which the LORD commanded Moses for the children of Israel in mount Sinai. %%% Ebyo bye biragiro, Mukama bye yalagira Musa olw'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi. 04NUM001.001 And the LORD spake unto Moses in the wilderness of Sinai, in the tabernacle of the congregation, on the first day of the second month, in the second year after they were come out of the land of Egypt, saying, %%% Awo Mukama n'ayogerera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, mu mwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti 04NUM001.002 Take ye the sum of all the congregation of the children of Israel, after their families, by the house of their fathers, with the number of their names, every male by their polls; %%% Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'omuwendo gw'amannya bwe guli, buli musajja, ng'emitwe gyabwe bwe giri; 04NUM001.003 From twenty years old and upward, all that are able to go forth to war in Israel: thou and Aaron shall number them by their armies. %%% abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri, ggwe ne Alooni mulibabala ng'eggye lyabwe bwe liri. 04NUM001.004 And with you there shall be a man of every tribe; every one head of the house of his fathers. %%% Era waliba wamu nammwe omusajja ow'omu buli kika; buli muntu omutwe gw'ennyumba ya bakitaawe. 04NUM001.005 And these are the names of the men that shall stand with you: of the tribe of Reuben; Elizur the son of Shedeur. %%% Era gano ge mannya g'abasajja abaliyimirira awamu nammwe: ku Lewubeeni; Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 04NUM001.006 Of Simeon; Shelumiel the son of Zurishaddai. %%% Ku Simyoni; Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 04NUM001.007 Of Judah; Nahshon the son of Amminadab. %%% Ku Yuda; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 04NUM001.008 Of Issachar; Nethaneel the son of Zuar. %%% Ku Isakaali; Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 04NUM001.009 Of Zebulun; Eliab the son of Helon. %%% Ku Zebbulooni; Eriyaabu mutabani wa Keroni. 04NUM001.010 Of the children of Joseph: of Ephraim; Elishama the son of Ammihud: of Manasseh; Gamaliel the son of Pedahzur. %%% Ku baana ba Yusufu: ku Efulayimu; Erisaama mutabani wa Ammikudi: ku Manase; Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 04NUM001.011 Of Benjamin; Abidan the son of Gideoni. %%% Ku Benyamini: Abidaani mutabani wa Gidiyooni. 04NUM001.012 Of Dan; Ahiezer the son of Ammishaddai. %%% Ku Ddaani; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 04NUM001.013 Of Asher; Pagiel the son of Ocran. %%% Ku Aseri; Pagiyeeri mutabaai wa Okulaani. 04NUM001.014 Of Gad; Eliasaph the son of Deuel. %%% Ku Gaadi; Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 04NUM001.015 Of Naphtali; Ahira the son of Enan. %%% Ku Nafutaali; Akira mutabani wa Enani. 04NUM001.016 These were the renowned of the congregation, princes of the tribes of their fathers, heads of thousands in Israel. %%% Abo be baayitibwa ku kibiina, abakulu b'ebika bya bakitaabwe; gye gyali emitwe gy'enkumi za Isiraeri. 04NUM001.017 And Moses and Aaron took these men which are expressed by their names: %%% Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya: 04NUM001.018 And they assembled all the congregation together on the first day of the second month, and they declared their pedigrees after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, by their polls. %%% ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, ne baatula okuzaalibwa kwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali. 04NUM001.019 As the LORD commanded Moses, so he numbered them in the wilderness of Sinai. %%% Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo bwe yababalira mu ddungu lya Sinaayi. 04NUM001.020 And the children of Reuben, Israel's eldest son, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, by their polls, every male from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% N'abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.021 Those that were numbered of them, even of the tribe of Reuben, were forty and six thousand and five hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Lewubeeni, baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano. 04NUM001.022 Of the children of Simeon, by their generations, after their families, by the house of their fathers, those that were numbered of them, according to the number of the names, by their polls, every male from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Simyoni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.023 Those that were numbered of them, even of the tribe of Simeon, were fifty and nine thousand and three hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Simyoni, baali obukumi butaano mu kenda mu bisatu. 04NUM001.024 Of the children of Gad, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Gaadi, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.025 Those that were numbered of them, even of the tribe of Gad, were forty and five thousand six hundred and fifty. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Gaadi, baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano. 04NUM001.026 Of the children of Judah, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Yuda, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.027 Those that were numbered of them, even of the tribe of Judah, were threescore and fourteen thousand and six hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Yuda, baali obukumi musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga. 04NUM001.028 Of the children of Issachar, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Isakaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyalca abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.029 Those that were numbered of them, even of the tribe of Issachar, were fifty and four thousand and four hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Isakaali, baali obukumi butaano mu enkumi nnya mu bina. 04NUM001.030 Of the children of Zebulun, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Zebbulooni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.031 Those that were numbered of them, even of the tribe of Zebulun, were fifty and seven thousand and four hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Zebbulooni, baali obukumi butaano mu kasanvu mu bina. 04NUM001.032 Of the children of Joseph, namely, of the children of Ephraim, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Yusufu, ku baana ba Efulayimu, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.033 Those that were numbered of them, even of the tribe of Ephraim, were forty thousand and five hundred.%%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Efulayimu, baali obukumi buna mu bitaano. 04NUM001.034 Of the children of Manasseh, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Manase, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.035 Those that were numbered of them, even of the tribe of Manasseh, were thirty and two thousand and two hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Manase, baali obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bibiri. 04NUM001.036 Of the children of Benjamin, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Benyamini, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.037 Those that were numbered of them, even of the tribe of Benjamin, were thirty and five thousand and four hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Benyamini, baali obukumi busatu mu enkumi. ttaano mu bina. 04NUM001.038 Of the children of Dan, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Ddaani, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.039 Those that were numbered of them, even of the tribe of Dan, were threescore and two thousand and seven hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Ddaani, baali obukumi mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu. 04NUM001.040 Of the children of Asher, by their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Aseri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.041 Those that were numbered of them, even of the tribe of Asher, were forty and one thousand and five hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Aseri, baali obukumi buna mu lukumi mu bitaano. 04NUM001.042 Of the children of Naphtali, throughout their generations, after their families, by the house of their fathers, according to the number of the names, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war; %%% Ku baana ba Nafutaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 04NUM001.043 Those that were numbered of them, even of the tribe of Naphtali, were fifty and three thousand and four hundred. %%% abaabalibwa ku bo, ku kika kya Nafutaali, baali obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina. 04NUM001.044 These are those that were numbered, which Moses and Aaron numbered, and the princes of Israel, being twelve men: each one was for the house of his fathers. %%% Abo be baabalibwa, Musa ne Alooni be baabala, n'abakulu ba Isiraeri, abasajja kkumi na babiri: buli muntu wa mu nnyumba ya bakitaabwe. 04NUM001.045 So were all those that were numbered of the children of Israel, by the house of their fathers, from twenty years old and upward, all that were able to go forth to war in Israel; %%% Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri; ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala mu Isiraeri; 04NUM001.046 Even all they that were numbered were six hundred thousand and three thousand and five hundred and fifty. %%% bonna abaabalibwa baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 04NUM001.047 But the Levites after the tribe of their fathers were not numbered among them. %%% Naye Abaleevi ng'ekika kya bakitaabwe bwe kyali tebaabalibwa mu bo. 04NUM001.048 For the LORD had spoken unto Moses, saying, %%% Kubanga Mukama yagamba Musa 04NUM001.049 Only thou shalt not number the tribe of Levi, neither take the sum of them among the children of Israel: %%% nti Kyokka ekika kya Leevi tolikibala, so tolinoonya muwendo gwabwe mu baana ba Isiraeri: 04NUM001.050 But thou shalt appoint the Levites over the tabernacle of testimony, and over all the vessels thereof, and over all things that belong to it: they shall bear the tabernacle, and all the vessels thereof; and they shall minister unto it, and shall encamp round about the tabernacle. %%% naye Abaleevi obafuule abakulu b'ennyumba ey'obujulirwa, era ab'ebintu byayo byonna, era ab'ebintu byonna ebigenderako: banaasitulanga ennyumba, n'ebintu byayo byonna; era banaagiweerezanga, era baanasiisiranga okwetooloola ennyumba. 04NUM001.051 And when the tabernacle setteth forward, the Levites shall take it down: and when the tabernacle is to be pitched, the Levites shall set it up: and the stranger that cometh nigh shall be put to death. %%% Era ennyumba bw'eneebanga etambula, Abaleevi be banaagisimbulanga: era ennyumba bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga: era munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga. 04NUM001.052 And the children of Israel shall pitch their tents, every man by his own camp, and every man by his own standard, throughout their hosts. %%% Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe; buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri. 04NUM001.053 But the Levites shall pitch round about the tabernacle of testimony, that there be no wrath upon the congregation of the children of Israel: and the Levites shall keep the charge of the tabernacle of testimony. %%% Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola ennyumba ey'obujulirwa, walemenga okuba obusungu ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri: era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ey'obujulirwa. 04NUM001.054 And the children of Israel did according to all that the LORD commanded Moses, so did they. %%% Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, ne bakola bwe batyo. 04NUM002.001 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Awo Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 04NUM002.002 Every man of the children of Israel shall pitch by his own standard, with the ensign of their father's house: far off about the tabernacle of the congregation shall they pitch. %%% Abaana ba Isiraeri banaasiisiranga buli muntu okuliraana n'ebendera ye, awali obubonero bw'ennyumba za bakitaabwe: banaasiisiranga okwolekera eweema ey'okusisinkanirangamu enjuyi zonna. 04NUM002.003 And on the east side toward the rising of the sun shall they of the standard of the camp of Judah pitch throughout their armies: and Nahshon the son of Amminadab shall be captain of the children of Judah. %%% Era abo abasiisira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri: era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda. 04NUM002.004 And his host, and those that were numbered of them, were threescore and fourteen thousand and six hundred. %%% Era eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi musanvu mu lukaaga. 04NUM002.005 And those that do pitch next unto him shall be the tribe of Issachar: and Nethaneel the son of Zuar shall be captain of the children of Issachar. %%% N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana: era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali: 04NUM002.006 And his host, and those that were numbered thereof, were fifty and four thousand and four hundred. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi butaano mu enkumi nnya mu bina: 04NUM002.007 Then the tribe of Zebulun: and Eliab the son of Helon shall be captain of the children of Zebulun. %%% n'ekika kya Zebbulooni: era Eriyaabu mutabani wa Keroni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Zebbulooni: 04NUM002.008 And his host, and those that were numbered thereof, were fifty and seven thousand and four hundred. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi butaano mu kasanvu mu bina. 04NUM002.009 All that were numbered in the camp of Judah were an hundred thousand and fourscore thousand and six thousand and four hundred, throughout their armies. These shall first set forth. %%% Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu obukumi munaana mu lukaaga mu bina, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaasookanga okusitula. 04NUM002.010 On the south side shall be the standard of the camp of Reuben according to their armies: and the captain of the children of Reuben shall be Elizur the son of Shedeur. %%% Ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri: era Erizuuli mutabani wa Sedewuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni. 04NUM002.011 And his host, and those that were numbered thereof, were forty and six thousand and five hundred.%%% N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano. 04NUM002.012 And those which pitch by him shall be the tribe of Simeon: and the captain of the children of Simeon shall be Shelumiel the son of Zurishaddai. %%% N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana: era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni: 04NUM002.013 And his host, and those that were numbered of them, were fifty and nine thousand and three hundred. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu kenda mu bisatu: 04NUM002.014 Then the tribe of Gad: and the captain of the sons of Gad shall be Eliasaph the son of Reuel. %%% n'ekika kya Gaadi: era Eriyasaafu mutabani wa Leweri ye anaabanga omukulu w'abaana ba Gaadi: 04NUM002.015 And his host, and those that were numbered of them, were forty and five thousand and six hundred and fifty. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumii buna mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano. 04NUM002.016 All that were numbered in the camp of Reuben were an hundred thousand and fifty and one thousand and four hundred and fifty, throughout their armies. And they shall set forth in the second rank. %%% Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu obukumi butaano mu lukumi mu bina mu ataano, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali okusitula. 04NUM002.017 Then the tabernacle of the congregation shall set forward with the camp of the Levites in the midst of the camp: as they encamp, so shall they set forward, every man in his place by their standards. %%% Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambulanga, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe. 04NUM002.018 On the west side shall be the standard of the camp of Ephraim according to their armies: and the captain of the sons of Ephraim shall be Elishama the son of Ammihud. %%% Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe lizi: era Erisaama mutabani wa Amaiikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu. 04NUM002.019 And his host, and those that were numbered of them, were forty thousand and five hundred. %%% N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali obukumi buna mu bitaano. 04NUM002.020 And by him shall be the tribe of Manasseh: and the captain of the children of Manasseh shall be Gamaliel the son of Pedahzur. %%% N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga: era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase; 04NUM002.021 And his host, and those that were numbered of them, were thirty and two thousand and two hundred. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bibiri: 04NUM002.022 Then the tribe of Benjamin: and the captain of the sons of Benjamin shall be Abidan the son of Gideoni. %%% n'ekika kya Benyamini: era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini: 04NUM002.023 And his host, and those that were numbered of them, were thirty and five thousand and four hundred. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali abukumi busatu mu enkumi ttaano mu bina. 04NUM002.024 All that were numbered of the camp of Ephraim were an hundred thousand and eight thousand and an hundred, throughout their armies. And they shall go forward in the third rank. %%% Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali nate okusitula. 04NUM002.025 The standard of the camp of Dan shall be on the north side by their armies: and the captain of the children of Dan shall be Ahiezer the son of Ammishaddai. %%% Ku luuyi olw'obukiika obwa kkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggye lyabwe bwe liri: era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani. 04NUM002.026 And his host, and those that were numbered of them, were threescore and two thousand and seven hundred. %%% N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu. 04NUM002.027 And those that encamp by him shall be the tribe of Asher: and the captain of the children of Asher shall be Pagiel the son of Ocran. %%% N'ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana: era Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Aseri: 04NUM002.028 And his host, and those that were numbered of them, were forty and one thousand and five hundred. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu lukumi mu bitaano: 04NUM002.029 Then the tribe of Naphtali: and the captain of the children of Naphtali shall be Ahira the son of Enan. %%% n'ekika kya Nafutaali: era Akira mutabani wa Enani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Nafutaali: 04NUM002.030 And his host, and those that were numbered of them, were fifty and three thousand and four hundred. %%% n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina. 04NUM002.031 All they that were numbered in the camp of Dan were an hundred thousand and fifty and seven thousand and six hundred. They shall go hindmost with their standards. %%% Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Ddaani baali kasiriivu mu obukumi butaano mu kasanvu mu lukaaga. Be banaasembanga ng'ebendera bwe ziri. 04NUM002.032 These are those which were numbered of the children of Israel by the house of their fathers: all those that were numbered of the camps throughout their hosts were six hundred thousand and three thousand and five hundred and fifty. %%% Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 04NUM002.033 But the Levites were not numbered among the children of Israel; as the LORD commanded Moses. %%% Naye Abaleevi tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM002.034 And the children of Israel did according to all that the LORD commanded Moses: so they pitched by their standards, and so they set forward, every one after their families, according to the house of their fathers. %%% Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baasitulanga, buli muntu ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali. 04NUM003.001 These also are the generations of Aaron and Moses in the day that the LORD spake with Moses in mount Sinai. %%% Era kuno kwe kuzaala kwa Alooni ne Musa ku lunaku Mukama lwe yayogereramu ne Musa ku lusozi Sinaayi. 04NUM003.002 And these are the names of the sons of Aaron; Nadab the firstborn, and Abihu, Eleazar, and Ithamar.%%% Era gano ge mannya g'abaana ba Alooni; Nadabu, omubereberye, ne Abiku, Eriyazaali, ne Isamaali. 04NUM003.003 These are the names of the sons of Aaron, the priests which were anointed, whom he consecrated to minister in the priest's office. %%% Ago ge mannya g'abaana ba Alooni, bakabona abaafukibwako amafuta, be yayawula okuweererezanga mu bwakabona. 04NUM003.004 And Nadab and Abihu died before the LORD, when they offered strange fire before the LORD, in the wilderness of Sinai, and they had no children: and Eleazar and Ithamar ministered in the priest's office in the sight of Aaron their father. %%% Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu ddungu lya Sinaayi, ne bataba na baana: awo Eriyazaali ne Isamaali ne baweererezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe. 04NUM003.005 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM003.006 Bring the tribe of Levi near, and present them before Aaron the priest, that they may minister unto him. %%% Sembeza ekika kya Leevi, obateeke mu maaso ga Alooni kabona, bamuweerezenga. 04NUM003.007 And they shall keep his charge, and the charge of the whole congregation before the tabernacle of the congregation, to do the service of the tabernacle. %%% Era banaakuumanga ebyo ye bye yalagirwa, n'ebyo ekibiina kyonna bye kyalagirwa, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba. 04NUM003.008 And they shall keep all the instruments of the tabernacle of the congregation, and the charge of the children of Israel, to do the service of the tabernacle. %%% Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba. 04NUM003.009 And thou shalt give the Levites unto Aaron and to his sons: they are wholly given unto him out of the children of Israel. %%% Era onoowa Alooni n'abaana be Abaleevi: baweereddwa ddala ye ku bw'abaana ba Isiraeri. 04NUM003.010 And thou shalt appoint Aaron and his sons, and they shall wait on their priest's office: and the stranger that cometh nigh shall be put to death. %%% Era onossaawo Alooni n'abaana be, era banaakuumanga obwakabona bwabwe: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga. 04NUM003.011 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Awo Mukama n'agamba Musa nti 04NUM003.012 And I, behold, I have taken the Levites from among the children of Israel instead of all the firstborn that openeth the matrix among the children of Israel: therefore the Levites shall be mine; %%% Nange, laba, nze nziye Abaleevi mu baana ba Isiraeri mu kifo ky'ababereberye abaggulanda mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange: 04NUM003.013 Because all the firstborn are mine; for on the day that I smote all the firstborn in the land of Egypt I hallowed unto me all the firstborn in Israel, both man and beast: mine shall they be: I am the LORD. %%% kubanga ababereberye bonna bange; ku lunaku lwe nnattiramu ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nneetukuliza ababereberye bonna mu Isiraeri, abantu era n'ensolo: banaabanga bange; nze ndi Mukama. 04NUM003.014 And the LORD spake unto Moses in the wilderness of Sinai, saying, %%% Awo Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi nti 04NUM003.015 Number the children of Levi after the house of their fathers, by their families: every male from a month old and upward shalt thou number them. %%% bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri: buli mwana mulenzi eyaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo onoobabala. 04NUM003.016 And Moses numbered them according to the word of the LORD, as he was commanded. %%% Musa n'ababala ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga bwe yalagirwa. 04NUM003.017 And these were the sons of Levi by their names; Gershon, and Kohath, and Merari. %%% Era bano be baana ba Leevi ng'amannya gaabwe bwe gali; Gerusoni ne Kokasi ne Merali. 04NUM003.018 And these are the names of the sons of Gershon by their families; Libni, and Shimei. %%% Era gano ge mannya g'abaana ba Gerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali; Libuni ne Simeeyi. 04NUM003.019 And the sons of Kohath by their families; Amram, and Izehar, Hebron, and Uzziel. %%% N'abaana ba Kokasi ng'enda zaabwe bwe zaali; Amulaamu ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri. 04NUM003.020 And the sons of Merari by their families; Mahli, and Mushi. These are the families of the Levites according to the house of their fathers. %%% N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali; Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'enayumba za bakitaabwe bwe zaali. 04NUM003.021 Of Gershon was the family of the Libnites, and the family of the Shimites: these are the families of the Gershonites. %%% Mu Gerusoni mwe mwava enda y'Abalibuni, n'enda y'Abasimeeyi: ezo ze nda z'Abagerusoni. 04NUM003.022 Those that were numbered of them, according to the number of all the males, from a month old and upward, even those that were numbered of them were seven thousand and five hundred. %%% Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo baali kasanvu mu bitaano. 04NUM003.023 The families of the Gershonites shall pitch behind the tabernacle westward. %%% Enda z'Abagerusoni banaassiisiranga nnyuma w'ennyumba ku luuyi olw'ebugwanjuba. 04NUM003.024 And the chief of the house of the father of the Gershonites shall be Eliasaph the son of Lael. %%% N'omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abagerusoni anaabanga Eriyasaafu mutabani wa Laeri. 04NUM003.025 And the charge of the sons of Gershon in the tabernacle of the congregation shall be the tabernacle, and the tent, the covering thereof, and the hanging for the door of the tabernacle of the congregation, %%% Era abaana ba Gerusoni kye baalagirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu kinaabanga ennyumba n'Eweema, ekigibikkako, n'eggigi ery'omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, 04NUM003.026 And the hangings of the court, and the curtain for the door of the court, which is by the tabernacle, and by the altar round about, and the cords of it for all the service thereof. %%% n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'omulyango gw'oluggya oluli ku nnyumba era olwetooloola ekyoto, n'emigwa gyalwo olw'okuweereza kwalwo kwonna. 04NUM003.027 And of Kohath was the family of the Amramites, and the family of the Izeharites, and the family of the Hebronites, and the family of the Uzzielites: these are the families of the Kohathites. %%% Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, n'enda y'Abaizukaali, n'enda y'Abakebbulooni, n'enda y'Abawuziyeeri: ezo ze nda z'Abakokasi. 04NUM003.028 In the number of all the males, from a month old and upward, were eight thousand and six hundred, keeping the charge of the sanctuary. %%% Ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo baali kanaana mu lukaaga abaakuumanga awatukuvu we baalagirwa. 04NUM003.029 The families of the sons of Kohath shall pitch on the side of the tabernacle southward. %%% Enda z'abaana ba Kokasi banaasiisiranga ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo. 04NUM003.030 And the chief of the house of the father of the families of the Kohathites shall be Elizaphan the son of Uzziel. %%% Era omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abakokasi anaabanga Erizafani mutabaani wa Wuziyeeri. 04NUM003.031 And their charge shall be the ark, and the table, and the candlestick, and the altars, and the vessels of the sanctuary wherewith they minister, and the hanging, and all the service thereof. %%% Era kye balagirwa kinaabanga sanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa, n'eggigi n'okuweereza kwalyo kwonna. 04NUM003.032 And Eleazar the son of Aaron the priest shall be chief over the chief of the Levites, and have the oversight of them that keep the charge of the sanctuary. %%% Ne Eriyazaali mutabaani wa Alooni kabona ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa. 04NUM003.033 Of Merari was the family of the Mahlites, and the family of the Mushites: these are the families of Merari. %%% Mu Merali mwe mwava enda y'Abamakuli, n'enda y'Abamusi: ezo ze nda za Merali. 04NUM003.034 And those that were numbered of them, according to the number of all the males, from a month old and upward, were six thousand and two hundred. %%% Era abo abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, baali kakaaga mu bibiri. 04NUM003.035 And the chief of the house of the father of the families of Merari was Zuriel the son of Abihail: these shall pitch on the side of the tabernacle northward. %%% Era omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'enda za Merali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri: abo banaasiisiranga ku luuyi lw'ennyumba olw'obukiika obwa kkono. 04NUM003.036 And under the custody and charge of the sons of Merari shall be the boards of the tabernacle, and the bars thereof, and the pillars thereof, and the sockets thereof, and all the vessels thereof, and all that serveth thereto, %%% N'omulimu ogulagirwa ogw'abaana ba Merali gunaabanga embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna; 04NUM003.037 And the pillars of the court round about, and their sockets, and their pins, and their cords. %%% n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo. 04NUM003.038 But those that encamp before the tabernacle toward the east, even before the tabernacle of the congregation eastward, shall be Moses, and Aaron and his sons, keeping the charge of the sanctuary for the charge of the children of Israel; and the stranger that cometh nigh shall be put to death. %%% N'abo abanaasiisiranga mu maaso g'ennyumba ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba ng'evaayo, banaabanga Musa, ne Alooni ne batabani be, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa, olw'okulagirwa kw'abaana ba Isiraeri; ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga. 04NUM003.039 All that were numbered of the Levites, which Moses and Aaron numbered at the commandment of the LORD, throughout their families, all the males from a month old and upward, were twenty and two thousand. %%% Bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri. 04NUM003.040 And the LORD said unto Moses, Number all the firstborn of the males of the children of Israel from a month old and upward, and take the number of their names. %%% Mukama n'agamba Musa nti Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, otwale omuwendo gw'amannya gaabwe. 04NUM003.041 And thou shalt take the Levites for me (I am the LORD) instead of all the firstborn among the children of Israel; and the cattle of the Levites instead of all the firstlings among the cattle of the children of Israel. %%% Era olintwalira nze Abaleevi nze Mukama mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri; n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'embereberye zonna ku bisibo by'abaana ba Isiraeri. 04NUM003.042 And Moses numbered, as the LORD commanded him, all the firstborn among the children of Israel. %%% Awo Musa n'abala, nga Mukama bwe yamulagira, ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri. 04NUM003.043 And all the firstborn males by the number of names, from a month old and upward, of those that were numbered of them, were twenty and two thousand two hundred and threescore and thirteen. %%% N'abasajja bonna ababereberye, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsanvu mu basatu. 04NUM003.044 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM003.045 Take the Levites instead of all the firstborn among the children of Israel, and the cattle of the Levites instead of their cattle; and the Levites shall be mine: I am the LORD. %%% Twala Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo byabwe: era Abaleevi banaabanga bange; nze Mukama. 04NUM003.046 And for those that are to be redeemed of the two hundred and threescore and thirteen of the firstborn of the children of Israel, which are more than the Levites; %%% N'olw'okununula ababereberye b'abaana ba Isiraeri bibiri mu nsanvu mu basatu, abafikkawo ku muwendo gw'Abaleevi, 04NUM003.047 Thou shalt even take five shekels apiece by the poll, after the shekel of the sanctuary shalt thou take them: (the shekel is twenty gerahs:) %%% onoosoloozanga sekeri ttaano buli muntu ng'emitwe bwe giri; onoozitwalanga nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri sekeri ze gera abiri: 04NUM003.048 And thou shalt give the money, wherewith the odd number of them is to be redeemed, unto Aaron and to his sons. %%% era onoowanga effeeza enunula omuwendo gwabwe ogufikkawo Alooni ne batabani be. 04NUM003.049 And Moses took the redemption money of them that were over and above them that were redeemed by the Levites: %%% Musa n'abasoloozaako effeeza enunula abo abafikkawo ku abo abaanunulibwa n'Abaleevi: 04NUM003.050 Of the firstborn of the children of Israel took he the money; a thousand three hundred and threescore and five shekels, after the shekel of the sanctuary: %%% ababereberye b'abaana ba Isiraeri be yasoloozaako effeeza; sekeri lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ssatu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: 04NUM003.051 And Moses gave the money of them that were redeemed unto Aaron and to his sons, according to the word of the LORD, as the LORD commanded Moses. %%% awo Musa n'awa Alooni ne batabani be effeeza enunula, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM004.001 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 04NUM004.002 Take the sum of the sons of Kohath from among the sons of Levi, after their families, by the house of their fathers, %%% Mubale omuwendo gw'abaana ba Kokasi ku baana ba Leevi, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, 04NUM004.003 From thirty years old and upward even until fifty years old, all that enter into the host, to do the work in the tabernacle of the congregation. %%% abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano, bonna abayingira mu kuweereza okwo, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM004.004 This shall be the service of the sons of Kohath in the tabernacle of the congregation, about the most holy things: %%% Guno gwe mulimu gw'abaana ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu, ogw'ebintu ebitukuvu ennyo: 04NUM004.005 And when the camp setteth forward, Aaron shall come, and his sons, and they shall take down the covering vail, and cover the ark of testimony with it: %%% olusiisira bwe lunaasitulanga, Alooni anaayingiranga n'abaana be ne batimbulula eggigi eritimbibwa, ne balibikka ku sanduuko ey'obujulirwa: 04NUM004.006 And shall put thereon the covering of badgers' skins, and shall spread over it a cloth wholly of blue, and shall put in the staves thereof. %%% ne bateeka okwo amaliba g'eŋŋonge okubikkako, ne baaliirira okwo olugoye olwa kaniki lwonna, ne bayingiza emisituliro gyayo. 04NUM004.007 And upon the table of shewbread they shall spread a cloth of blue, and put thereon the dishes, and the spoons, and the bowls, and covers to cover withal: and the continual bread shall be thereon: %%% Ne ku mmeeza ey'emigaati egy'okulaga banaayaliirangako olugoye olwa kaniki ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe eby'okufukanga nabyo: n'emigaati egitavangawo ginaabanga okwo: 04NUM004.008 And they shall spread upon them a cloth of scarlet, and cover the same with a covering of badgers' skins, and shall put in the staves thereof. %%% era banaayaliiranga ku byo olugoye olumyufu, ne balusabikako olwo n'amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyayo. 04NUM004.009 And they shall take a cloth of blue, and cover the candlestick of the light, and his lamps, and his tongs, and his snuffdishes, and all the oil vessels thereof, wherewith they minister unto it: %%% Ne baddira olugoye olwa kaniki, ne basabika ku kikondo ky'ettabaaza, n'eby'ettabaaza byakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta, bye bakiweerezesa: 04NUM004.010 And they shall put it and all the vessels thereof within a covering of badgers' skins, and shall put it upon a bar. %%% ne bakisiba kyo n'ebintu byakyo byonna mu maliba g'eŋŋonge agasabika, ne bakiteeka ku muti. 04NUM004.011 And upon the golden altar they shall spread a cloth of blue, and cover it with a covering of badgers' skins, and shall put to the staves thereof: %%% Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa kaniki, ne balusabikako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo: 04NUM004.012 And they shall take all the instruments of ministry, wherewith they minister in the sanctuary, and put them in a cloth of blue, and cover them with a covering of badgers' skins, and shall put them on a bar: %%% ne baddira ebintu byonna eby'okuweereza, bye baweerezesa mu watukuvu, ne babisiba mu lugoye olwa kaniki, ne babisabikako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne babiteeka ku muti. 04NUM004.013 And they shall take away the ashes from the altar, and spread a purple cloth thereon: %%% Ne baggya evvu mu kyoto, ne bakyaliirako olugoye olw'effulungu: 04NUM004.014 And they shall put upon it all the vessels thereof, wherewith they minister about it, even the censers, the fleshhooks, and the shovels, and the basons, all the vessels of the altar; and they shall spread upon it a covering of badgers' skins, and put to the staves of it. %%% ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye baweerezesa emirimu gyakyo, emmumbiro, n'eby'okukwasa ennyama, n'ebijiiko, n'ebibya, ebintu byonna eby'ekyoto; ne bakyaliirako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo. 04NUM004.015 And when Aaron and his sons have made an end of covering the sanctuary, and all the vessels of the sanctuary, as the camp is to set forward; after that, the sons of Kohath shall come to bear it: but they shall not touch any holy thing, lest they die. These things are the burden of the sons of Kohath in the tabernacle of the congregation. %%% Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ku watukuvu, n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, olusiisira nga lunaatera okusitula; oluvannyuma batabani ba Kokasi ne balyoka bajja okubisitula: naye tebakomanga ku watukuvu, baleme okufa. Ebyo gwe mugugu gwa batabani ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM004.016 And to the office of Eleazar the son of Aaron the priest pertaineth the oil for the light, and the sweet incense, and the daily meat offering, and the anointing oil, and the oversight of all the tabernacle, and of all that therein is, in the sanctuary, and in the vessels thereof. %%% Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona by'anaateresebwa binaabanga mafuta ga ttabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'amafuta ag'okufukako, anaateresebwanga eweema yonna, n'ebigirimu byonna, awatukuvu n'ebintu byawo. 04NUM004.017 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 04NUM004.018 Cut ye not off the tribe of the families of the Kohathites from among the Levites: %%% Ekika eky'ennyumba z'Abakokasi temukisalako okukiggya mu Baleevi: 04NUM004.019 But thus do unto them, that they may live, and not die, when they approach unto the most holy things: Aaron and his sons shall go in, and appoint them every one to his service and to his burden: %%% naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, ng'abasemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne balagira buli muntu okuweereza kwe n'omugugu gwe: 04NUM004.020 But they shall not go in to see when the holy things are covered, lest they die. %%% naye tebayingiranga n'akamu kokka kulaba watukuvu, baleme okufa. 04NUM004.021 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM004.022 Take also the sum of the sons of Gershon, throughout the houses of their fathers, by their families; %%% Bala omuwendo gw'abaana ba Gerusoni nabo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri; 04NUM004.023 From thirty years old and upward until fifty years old shalt thou number them; all that enter in to perform the service, to do the work in the tabernacle of the congregation. %%% abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano b'oba obala; bonna abayingira okulwana olutalo olwo, okukola omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM004.024 This is the service of the families of the Gershonites, to serve, and for burdens: %%% Kuno kwe kuweereza kw'enda ez'Abagerusoni, mu kuweereza ne mu kusitula emigugu: 04NUM004.025 And they shall bear the curtains of the tabernacle, and the tabernacle of the congregation, his covering, and the covering of the badgers' skins that is above upon it, and the hanging for the door of the tabernacle of the congregation, %%% banaasitulanga amagigi ag'ennyumba, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, ebisabika ku yo, n'amaliba g'eŋŋonge agagisabikako waggulu, n'eggigi ery'oluggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu; 04NUM004.026 And the hangings of the court, and the hanging for the door of the gate of the court, which is by the tabernacle and by the altar round about, and their cords, and all the instruments of their service, and all that is made for them: so shall they serve. %%% n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'oluggi lwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emigwa gyabyo, n'ebintu byonna eby'okuweereza kwabyo, n'emirimu gyonna gye binaakolanga, ebyo bye banaaweerezanga. 04NUM004.027 At the appointment of Aaron and his sons shall be all the service of the sons of the Gershonites, in all their burdens, and in all their service: and ye shall appoint unto them in charge all their burdens. %%% Alooni ne batabani be be banaalagiranga okuweereza kwonna okwa batabani ba Gerusoni, mu kusitula kwabwe kwonna ne mu kuweereza kwabwe kwonna: era mmwe munaabagabiranga okusitula kwabwe kwonna okubakukwasa. 04NUM004.028 This is the service of the families of the sons of Gershon in the tabernacle of the congregation: and their charge shall be under the hand of Ithamar the son of Aaron the priest. %%% Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabaai ba Gerusoni mu weema ey'okusisinkanirangamu: n'okulagirwa kwabwe kunaabanga wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 04NUM004.029 As for the sons of Merari, thou shalt number them after their families, by the house of their fathers; %%% Batabani ba Merali, onoobabala ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri; 04NUM004.030 From thirty years old and upward even unto fifty years old shalt thou number them, every one that entereth into the service, to do the work of the tabernacle of the congregation. %%% abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano b'oba obala, buli ayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM004.031 And this is the charge of their burden, according to all their service in the tabernacle of the congregation; the boards of the tabernacle, and the bars thereof, and the pillars thereof, and sockets thereof, %%% Era kino kye kiragiro eky'okusitula kwabwe, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli mu weema ey'okusisinkanirangamu; embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 04NUM004.032 And the pillars of the court round about, and their sockets, and their pins, and their cords, with all their instruments, and with all their service: and by name ye shall reckon the instruments of the charge of their burden. %%% n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, n'okuweereza kwazo kwonna: era munaabagabiranga ng'amannya gaabwe bwe gali ebintu bye banaalagirwanga bye banaasitulanga. 04NUM004.033 This is the service of the families of the sons of Merari, according to all their service, in the tabernacle of the congregation, under the hand of Ithamar the son of Aaron the priest. %%% Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli, mu weema ey'okusisinkanirangamu, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 04NUM004.034 And Moses and Aaron and the chief of the congregation numbered the sons of the Kohathites after their families, and after the house of their fathers, %%% Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala batabani b'Abakokasi, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 04NUM004.035 From thirty years old and upward even unto fifty years old, every one that entereth into the service, for the work in the tabernacle of the congregation: %%% abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo, okutuusa emyaka ataano, buli eyalyingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu: 04NUM004.036 And those that were numbered of them by their families were two thousand seven hundred and fifty. %%% era abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano. 04NUM004.037 These were they that were numbered of the families of the Kohathites, all that might do service in the tabernacle of the congregation, which Moses and Aaron did number according to the commandment of the LORD by the hand of Moses. %%% Abo be baabalibwa ku nda ez'Abakokasi, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa. 04NUM004.038 And those that were numbered of the sons of Gershon, throughout their families, and by the house of their fathers, %%% N'abo abaabalibwa ku batabani ba Gerusoni, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 04NUM004.039 From thirty years old and upward even unto fifty years old, every one that entereth into the service, for the work in the tabernacle of the congregation, %%% abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu, 04NUM004.040 Even those that were numbered of them, throughout their families, by the house of their fathers, were two thousand and six hundred and thirty. %%% abo abaabalibwa ku bo, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu lusanvu mu asatu. 04NUM004.041 These are they that were numbered of the families of the sons of Gershon, of all that might do service in the tabernacle of the congregation, whom Moses and Aaron did number according to the commandment of the LORD. %%% Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Gerusoni, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali. 04NUM004.042 And those that were numbered of the families of the sons of Merari, throughout their families, by the house of their fathers, %%% N'abo abaabalibwa ku nda za batabani ba Merali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 04NUM004.043 From thirty years old and upward even unto fifty years old, every one that entereth into the service, for the work in the tabernacle of the congregation, %%% abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu, 04NUM004.044 Even those that were numbered of them after their families, were three thousand and two hundred. %%% abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu bibiri. 04NUM004.045 These be those that were numbered of the families of the sons of Merari, whom Moses and Aaron numbered according to the word of the LORD by the hand of Moses. %%% Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Merali Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa. 04NUM004.046 All those that were numbered of the Levites, whom Moses and Aaron and the chief of Israel numbered, after their families, and after the house of their fathers, %%% Abo bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni n'abakulu ba Isiraeri be baabala, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 04NUM004.047 From thirty years old and upward even unto fifty years old, every one that came to do the service of the ministry, and the service of the burden in the tabernacle of the congregation, %%% abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira okukolanga omulimu ogw'okuweereza, n'omulimu ogw'okusitula emigugu mu weema ey'okusisinkanirangamu, 04NUM004.048 Even those that were numbered of them, were eight thousand and five hundred and fourscore. %%% abo abaabalibwa ku bo baali kanaana mu bitaano mu kinaana. 04NUM004.049 According to the commandment of the LORD they were numbered by the hand of Moses, every one according to his service, and according to his burden: thus were they numbered of him, as the LORD commanded Moses. %%% Ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, baabalibwa n'omukono gwa Musa buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, era ng'okusitula kwe bwe kwali: bw'atyo bwe yababala, nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM005.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM005.002 Command the children of Israel, that they put out of the camp every leper, and every one that hath an issue, and whosoever is defiled by the dead: %%% Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli atali mulongoofu olw'omufu: 04NUM005.003 Both male and female shall ye put out, without the camp shall ye put them; that they defile not their camps, in the midst whereof I dwell. %%% abasajja era n'abakazi munaabaggyangamu, munaabafulumyanga ebweru w'olusiisira; balemenga okwonoona olusiisira lwabwe, lwe ntuulamu wakati. 04NUM005.004 And the children of Israel did so, and put them out without the camp: as the LORD spake unto Moses, so did the children of Israel.%%% Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne babafulumya ebweru w'olusiisira: nga Mukama bwe yagamba Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo. 04NUM005.005 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM005.006 Speak unto the children of Israel, When a man or woman shall commit any sin that men commit, to do a trespass against the LORD, and that person be guilty; %%% Gamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna abantu kye bakola, okusobya Mukama, omuntu oyo n'abaako omusango; 04NUM005.007 Then they shall confess their sin which they have done: and he shall recompense his trespass with the principal thereof, and add unto it the fifth part thereof, and give it unto him against whom he hath trespassed. %%% kale banaayatulanga ekibi kye bakoze: era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'assaako n'ekitundu kyabyo eky'okutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango. 04NUM005.008 But if the man have no kinsman to recompense the trespass unto, let the trespass be recompensed unto the LORD, even to the priest; beside the ram of the atonement, whereby an atonement shall be made for him. %%% Naye omuntu oyo bw'aba nga talina muganda we gwe bayinza okuliyira olw'omusango, ebyo bye baliwa olw'omusango bye baliyira Mukama binaabanga bya kabona; era n'endiga ennume ey'okutangirira, gye banaamutangirizanga. 04NUM005.009 And every offering of all the holy things of the children of Israel, which they bring unto the priest, shall be his. %%% Na buli kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu byonna ebitukuw eby'abaana ba Isiraeri, bye baleetera kabona, kinaabanga kikye. 04NUM005.010 And every man's hallowed things shall be his: whatsoever any man giveth the priest, it shall be his. %%% N'ebintu ebya buli muntu ebitukuzibwa, binaabanga bibye: ekintu kyonna omuntu yenna ky'anaawanga kabona, kinaabanga kikye. 04NUM005.011 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'ayogera ne Musa nti 04NUM005.012 Speak unto the children of Israel, and say unto them, If any man's wife go aside, and commit a trespass against him, %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omukazi w'omuntu yenna bw'anaakyamanga, n'amusobyako, 04NUM005.013 And a man lie with her carnally, and it be hid from the eyes of her husband, and be kept close, and she be defiled, and there be no witness against her, neither she be taken with the manner; %%% omusajja n'asula naye, ne kikwekebwa amaaso ga bbaawe, ne kikisibwa, ye n'ayonooneka, ne wataba mujulirwa amulumiriza, era nga tebamusisinkanirizza; 04NUM005.014 And the spirit of jealousy come upon him, and he be jealous of his wife, and she be defiled: or if the spirit of jealousy come upon him, and he be jealous of his wife, and she be not defiled: %%% omwoyo ogw'obuggya ne gumujjira, n'akwatirwa mukazi we obuggya, naye ng'ayonoonese: oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunaamujjiranga, n'akwatirwa mukazi we obuggya, so naye nga tayonoonese: 04NUM005.015 Then shall the man bring his wife unto the priest, and he shall bring her offering for her, the tenth part of an ephah of barley meal; he shall pour no oil upon it, nor put frankincense thereon; for it is an offering of jealousy, an offering of memorial, bringing iniquity to remembrance. %%% kale omusajja anaaleetanga mukazi we eri kabona, n'amuleetera ekitone kye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri; tafukangako mafuta gonna, so tateekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, ekijjukiza obutali butuukirivu. 04NUM005.016 And the priest shall bring her near, and set her before the LORD: %%% Awo kabona anaamusembezanga, n'amuteeka mu maaso ga Mukama: 04NUM005.017 And the priest shall take holy water in an earthen vessel; and of the dust that is in the floor of the tabernacle the priest shall take, and put it into the water: %%% kabona n'addira amazzi amatukuvu mu kintu eky'ebbumba; ne ku nfuufu eri wansi mu weema kabona anaatolangako, n'agiteeka mu mazzi: 04NUM005.018 And the priest shall set the woman before the LORD, and uncover the woman's head, and put the offering of memorial in her hands, which is the jealousy offering: and the priest shall have in his hand the bitter water that causeth the curse: %%% kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama n'abikkula ku nviiri ez'oku mutwe gw'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, kye kiweebwayo eky'obutta eky'obuggya: era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazti agakaawa agaleeta ekikolimo: 04NUM005.019 And the priest shall charge her by an oath, and say unto the woman, If no man have lain with thee, and if thou hast not gone aside to uncleanness with another instead of thy husband, be thou free from this bitter water that causeth the curse: %%% awo kabona anaamulayizanga, n'agamba omukazi nti Oba nga tewali musajja eyasula naawe, so tokyamanga eri obutali bulongoofu, ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegakubeerako: 04NUM005.020 But if thou hast gone aside to another instead of thy husband, and if thou be defiled, and some man have lain with thee beside thine husband: %%% naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala oba nga yasula naawe atali balo: 04NUM005.021 Then the priest shall charge the woman with an oath of cursing, and the priest shall say unto the woman, The LORD make thee a curse and an oath among thy people, when the LORD doth make thy thigh to rot, and thy belly to swell; %%% awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'okukolima, kabona n'agamba omukazi nti Mukama akufuule ekikolimo n'ekirayiro mu bantu bo, Mukama bw'akoozimbyanga ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo; 04NUM005.022 And this water that causeth the curse shall go into thy bowels, to make thy belly to swell, and thy thigh to rot: And the woman shall say, Amen, amen. %%% n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo; omukazi n'ayogera nti Amina, Amina. 04NUM005.023 And the priest shall write these curses in a book, and he shall blot them out with the bitter water: %%% Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi agakaawa: 04NUM005.024 And he shall cause the woman to drink the bitter water that causeth the curse: and the water that causeth the curse shall enter into her, and become bitter. %%% n’anywesa omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo: amazzi agaleeta ekikolimo ne gayingira mu ye ne gakaawa. 04NUM005.025 Then the priest shall take the jealousy offering out of the woman's hand, and shall wave the offering before the LORD, and offer it upon the altar: %%% Awo kabona anaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akireeta eri ekyoto: 04NUM005.026 And the priest shall take an handful of the offering, even the memorial thereof, and burn it upon the altar, and afterward shall cause the woman to drink the water. %%% kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago. 04NUM005.027 And when he hath made her to drink the water, then it shall come to pass, that, if she be defiled, and have done trespass against her husband, that the water that causeth the curse shall enter into her, and become bitter, and her belly shall swell, and her thigh shall rot: and the woman shall be a curse among her people. %%% Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, kale olunaatuukanga, bw'anaabanga ayonoonese, era ng'asobezza ku bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingirangamu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be. 04NUM005.028 And if the woman be not defiled, but be clean; then she shall be free, and shall conceive seed. %%% Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, naye nga mulongoofu; kale taabengako kigambo, n'okuba aliba lubuto. 04NUM005.029 This is the law of jealousies, when a wife goeth aside to another instead of her husband, and is defiled; %%% Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi ng'afugibwa bbaawe bw'anaakyamanga n'ayonooneka: 04NUM005.030 Or when the spirit of jealousy cometh upon him, and he be jealous over his wife, and shall set the woman before the LORD, and the priest shall execute upon her all this law. %%% oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunajjiranga omusajja, n'akwatirwa mukazi we obuggya; awo anaateekanga omukazi mu maaso ga Mukama, ne kabona anaamukoleranga etteeka eryo lyonna: 04NUM005.031 Then shall the man be guiltless from iniquity, and this woman shall bear her iniquity. %%% Omusajja n'atabaako butali butuukirivu, n'omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe. 04NUM006.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'ayogera ne Musa nti 04NUM006.002 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When either man or woman shall separate themselves to vow a vow of a Nazarite, to separate themselves unto the LORD: %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obweyamo obw'omuwonge, okwewonga eri Mukama: 04NUM006.003 He shall separate himself from wine and strong drink, and shall drink no vinegar of wine, or vinegar of strong drink, neither shall he drink any liquor of grapes, nor eat moist grapes, or dried. %%% aneeyawulanga n'omwenge n'ekitamiiza; tanywanga ku mwenge omukaatuufu, n'ewakubadde ekitamiiza ekikaatuufu, so tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, so talyanga zabbibu mbisi newakubadde enkalu. 04NUM006.004 All the days of his separation shall he eat nothing that is made of the vine tree, from the kernels even to the husk. %%% Ennaku zonna ez'okwewonga kwe talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, newakubadde ensigo newakubadde ebikuta. 04NUM006.005 All the days of the vow of his separation there shall no razor come upon his head: until the days be fulfilled, in the which he separateth himself unto the LORD, he shall be holy, and shall let the locks of the hair of his head grow. %%% Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: okutuusa ennaku lwe zinaatuukiriranga, ze yeewongeramu eri Mukama, anaabanga mutukuvu, anaalekanga emivumbo gy'enviiri ez'oku mutwe gwe okukula. 04NUM006.006 All the days that he separateth himself unto the LORD he shall come at no dead body. %%% Ennaku zonna ze yeewongeramu eri Mukama, tasembereranga mulambo. 04NUM006.007 He shall not make himself unclean for his father, or for his mother, for his brother, or for his sister, when they die: because the consecration of his God is upon his head. %%% Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa kitaawe, newakubadde lwa nnyina, newakubadde lwa muganda we, newakubadde lwa mwannyina, bwe banaafanga: kubanga okwewonga kwe eri Katonda kuli ku mutwe gwe. 04NUM006.008 All the days of his separation he is holy unto the LORD. %%% Ennaku zonna ez'okwewonga kwe aba mutukuvu eri Mukama. 04NUM006.009 And if any man die very suddenly by him, and he hath defiled the head of his consecration; then he shall shave his head in the day of his cleansing, on the seventh day shall he shave it. %%% Era omuntu yenna bw'anaafanga amangu ennyo ng'amuliraanye naye n'ayonoona omutwe ogw'okwewonga kwe; kale anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe ku lunaku olw'omusanvu kw'anaagumweranga. 04NUM006.010 And on the eighth day he shall bring two turtles, or two young pigeons, to the priest, to the door of the tabernacle of the congregation: %%% Ne ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: 04NUM006.011 And the priest shall offer the one for a sin offering, and the other for a burnt offering, and make an atonement for him, for that he sinned by the dead, and shall hallow his head that same day. %%% awo kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira, kubanga yayonoona olw'abafu, n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo. 04NUM006.012 And he shall consecrate unto the LORD the days of his separation, and shall bring a lamb of the first year for a trespass offering: but the days that were before shall be lost, because his separation was defiled. %%% Era anaawonganga eri Mukama ennaku ez'okwewonga kwe, n'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango: naye ennaku ezisoose zinaabanga zifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka. 04NUM006.013 And this is the law of the Nazarite, when the days of his separation are fulfilled: he shall be brought unto the door of the tabernacle of the congregation: %%% Era lino lye tteeka ery'omuwonge, ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaatuukiriranga: anaaleetebwanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: 04NUM006.014 And he shall offer his offering unto the LORD, one he lamb of the first year without blemish for a burnt offering, and one ewe lamb of the first year without blemish for a sin offering, and one ram without blemish for peace offerings, %%% n'awaayo ekitone kye eri Mukama, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ebiweebwayo olw'emirembe, 04NUM006.015 And a basket of unleavened bread, cakes of fine flour mingled with oil, and wafers of unleavened bread anointed with oil, and their meat offering, and their drink offerings. %%% n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwako obuweebwayo, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo. 04NUM006.016 And the priest shall bring them before the LORD, and shall offer his sin offering, and his burnt offering: %%% Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'a waayo ekyokebwa: 04NUM006.017 And he shall offer the ram for a sacrifice of peace offerings unto the LORD, with the basket of unleavened bread: the priest shall offer also his meat offering, and his drink offering. %%% n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa: era kabona anaawangayo n'obutta obuweebwayo bwako, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo. 04NUM006.018 And the Nazarite shall shave the head of his separation at the door of the tabernacle of the congregation, and shall take the hair of the head of his separation, and put it in the fire which is under the sacrifice of the peace offerings. %%% Era omuwonge anaamweranga omutwe ogw'okwewonga kwe ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ez'oku mutwe ogw'okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe. 04NUM006.019 And the priest shall take the sodden shoulder of the ram, and one unleavened cake out of the basket, and one unleavened wafer, and shall put them upon the hands of the Nazarite, after the hair of his separation is shaven: %%% Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukuswa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukuswa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe ogw'okwewonga kwe 04NUM006.020 And the priest shall wave them for a wave offering before the LORD: this is holy for the priest, with the wave breast and heave shoulder: and after that the Nazarite may drink wine. %%% awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa: oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge. 04NUM006.021 This is the law of the Nazarite who hath vowed, and of his offering unto the LORD for his separation, beside that that his hand shall get: according to the vow which he vowed, so he must do after the law of his separation. %%% Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekitone kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe, obutassaako ebyo by'ayinza okufuna: ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri. 04NUM006.022 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'ayogera ne Musa nti 04NUM006.023 Speak unto Aaron and unto his sons, saying, On this wise ye shall bless the children of Israel, saying unto them, %%% Yogera ne Alooni ne batabani be nti Bwe mutyo bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri: munaabagambanga nti 04NUM006.024 The LORD bless thee, and keep thee: %%% Mukama akuwe omukisa, akukuume: 04NUM006.025 The LORD make his face shine upon thee, and be gracious unto thee: %%% Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa: 04NUM006.026 The LORD lift up his countenance upon thee, and give thee peace. %%% Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe. 04NUM006.027 And they shall put my name upon the children of Israel; and I will bless them. %%% Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa. 04NUM007.001 And it came to pass on the day that Moses had fully set up the tabernacle, and had anointed it, and sanctified it, and all the instruments thereof, both the altar and all the vessels thereof, and had anointed them, and sanctified them; %%% Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba ennyumba, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza; 04NUM007.002 That the princes of Israel, heads of the house of their fathers, who were the princes of the tribes, and were over them that were numbered, offered: %%% awo abakulu ba Isiraeri, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawaayo; abo be baali abakulu b'ebika, abo be baafuganga abo abaabalibwa: 04NUM007.003 And they brought their offering before the LORD, six covered wagons, and twelve oxen; a wagon for two of the princes, and for each one an ox: and they brought them before the tabernacle. %%% ne baleeta ekitone kyabwe mu maaso ga Mukama, amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri; eggaali erimu lya bakulu kinnababirye era kinoomu ente: ne babyanjula mu maaso g'ennyumba. 04NUM007.004 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM007.005 Take it of them, that they may be to do the service of the tabernacle of the congregation; and thou shalt give them unto the Levites, to every man according to his service. %%% Kitoole gye bali, bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli. 04NUM007.006 And Moses took the wagons and the oxen, and gave them unto the Levites. %%% Musa n'atoola amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi. 04NUM007.007 Two wagons and four oxen he gave unto the sons of Gershon, according to their service: %%% Amagaali abiri n'ente nnya bye yawa batabani ba Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali: 04NUM007.008 And four wagons and eight oxen he gave unto the sons of Merari, according unto their service, under the hand of Ithamar the son of Aaron the priest. %%% n'amagaali ana n'ente munaana bye yawa batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 04NUM007.009 But unto the sons of Kohath he gave none: because the service of the sanctuary belonging unto them was that they should bear upon their shoulders. %%% Naye batabani ba Kokasi teyabawaako: kubanga okuweereza okw'omu watukuvu kwali kwabwe; baakusituliranga ku bibegabega byabwe. 04NUM007.010 And the princes offered for dedicating of the altar in the day that it was anointed, even the princes offered their offering before the altar. %%% Awo abakulu ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe kyafukirwako amafuta, abakulu ne bawaayo ekirabo kyabwe mu maaso g'ekyoto. 04NUM007.011 And the LORD said unto Moses, They shall offer their offering, each prince on his day, for the dedicating of the altar. %%% Mukama n'agamba Musa nti Banaawangayo ekitone kyabwe, buli mukulu ku lunaku lwe, olw'okutukuza ekyoto. 04NUM007.012 And he that offered his offering the first day was Nahshon the son of Amminadab, of the tribe of Judah: %%% N'oyo eyawaayo ekitone kye ku lunaku olw'olubereberye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow'omu kika kya Yuda: 04NUM007.013 And his offering was one silver charger, the weight thereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them were full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% n'ekitone kye kyali ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.014 One spoon of ten shekels of gold, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.015 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.016 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.017 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Nahshon the son of Amminadab. %%% era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu: 04NUM007.018 On the second day Nethaneel the son of Zuar, prince of Issachar, did offer: %%% Ku lunaku olw'okubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo: 04NUM007.019 He offered for his offering one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% yawaayo okuba ekitone kye essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.020 One spoon of gold of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.021 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.022 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.023 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Nethaneel the son of Zuar. %%% era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 04NUM007.024 On the third day Eliab the son of Helon, prince of the children of Zebulun, did offer: %%% Ku lunaku olw'okusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo: 04NUM007.025 His offering was one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.026 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.027 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.028 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.029 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Eliab the son of Helon. %%% era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyaabu mutabani wa Keroni. 04NUM007.030 On the fourth day Elizur the son of Shedeur, prince of the children of Reuben, did offer: %%% Ku lunaku olw'okuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo: 04NUM007.031 His offering was one silver charger of the weight of an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.032 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.033 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente evubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.034 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.035 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Elizur the son of Shedeur. %%% era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabaani wa Sedewuli. 04NUM007.036 On the fifth day Shelumiel the son of Zurishaddai, prince of the children of Simeon, did offer: %%% Ku lunaku olw'okutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni n'awaayo: 04NUM007.037 His offering was one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.038 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.039 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.040 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.041 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Shelumiel the son of Zurishaddai. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 04NUM007.042 On the sixth day Eliasaph the son of Deuel, prince of the children of Gad, offered: %%% Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo: 04NUM007.043 His offering was one silver charger of the weight of an hundred and thirty shekels, a silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri eyomu watukuvu bw'eri; byombi, nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.044 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.045 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.046 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.047 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Eliasaph the son of Deuel. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 04NUM007.048 On the seventh day Elishama the son of Ammihud, prince of the children of Ephraim, offered: %%% Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo; 04NUM007.049 His offering was one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.050 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi ekijjudde obubaane; 04NUM007.051 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.052 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.053 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Elishama the son of Ammihud. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi. 04NUM007.054 On the eighth day offered Gamaliel the son of Pedahzur, prince of the children of Manasseh: %%% Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo: 04NUM007.055 His offering was one silver charger of the weight of an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.056 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.057 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyakebwa; 04NUM007.058 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.059 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Gamaliel the son of Pedahzur. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli. 04NUM007.060 On the ninth day Abidan the son of Gideoni, prince of the children of Benjamin, offered: %%% Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo: 04NUM007.061 His offering was one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.062 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.063 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.064 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.065 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Abidan the son of Gideoni. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu; ekyo kye kyali ekitone kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni. 04NUM007.066 On the tenth day Ahiezer the son of Ammishaddai, prince of the children of Dan, offered: %%% Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani, n'awaayo: 04NUM007.067 His offering was one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.068 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.069 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.070 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.071 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Ahiezer the son of Ammishaddai. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 04NUM007.072 On the eleventh day Pagiel the son of Ocran, prince of the children of Asher, offered: %%% Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo: 04NUM007.073 His offering was one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.074 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 04NUM007.075 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.076 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.077 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Pagiel the son of Ocran. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 04NUM007.078 On the twelfth day Ahira the son of Enan, prince of the children of Naphtali, offered: %%% Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo: 04NUM007.079 His offering was one silver charger, the weight whereof was an hundred and thirty shekels, one silver bowl of seventy shekels, after the shekel of the sanctuary; both of them full of fine flour mingled with oil for a meat offering: %%% ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta; 04NUM007.080 One golden spoon of ten shekels, full of incense: %%% ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi ekijjudde obubaane; 04NUM007.081 One young bullock, one ram, one lamb of the first year, for a burnt offering: %%% ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 04NUM007.082 One kid of the goats for a sin offering: %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 04NUM007.083 And for a sacrifice of peace offerings, two oxen, five rams, five he goats, five lambs of the first year: this was the offering of Ahira the son of Enan. %%% n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akira mutabani wa Enani. 04NUM007.084 This was the dedication of the altar, in the day when it was anointed, by the princes of Israel: twelve chargers of silver, twelve silver bowls, twelve spoons of gold: %%% Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukirwako amafuta mu mikono gy'abakulu ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri ebya zaabu: 04NUM007.085 Each charger of silver weighing an hundred and thirty shekels, each bowl seventy: all the silver vessels weighed two thousand and four hundred shekels, after the shekel of the sanctuary: %%% buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu, na buli kibya sekeri nsanvu: effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; 04NUM007.086 The golden spoons were twelve, full of incense, weighing ten shekels apiece, after the shekel of the sanctuary: all the gold of the spoons was an hundred and twenty shekels. %%% ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri, ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri: 04NUM007.087 All the oxen for the burnt offering were twelve bullocks, the rams twelve, the lambs of the first year twelve, with their meat offering: and the kids of the goats for sin offering twelve. %%% ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa kkumi na bibiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu kkumi na babiri, n'obutta bwabyo obuweebwayo: n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri: 04NUM007.088 And all the oxen for the sacrifice of the peace offerings were twenty and four bullocks, the rams sixty, the he goats sixty, the lambs of the first year sixty. This was the dedication of the altar, after that it was anointed. %%% n'ente zonna okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ente abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu nkaaga. Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta. 04NUM007.089 And when Moses was gone into the tabernacle of the congregation to speak with him, then he heard the voice of one speaking unto him from off the mercy seat that was upon the ark of testimony, from between the two cherubims: and he spake unto him. %%% Awo Musa bwe yayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu okwogera naye, n'alyoka awulira Eddoboozi eryo nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku sanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi: n'ayogera naye. 04NUM008.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'ayogera ne Musa nti 04NUM008.002 Speak unto Aaron, and say unto him, When thou lightest the lamps, the seven lamps shall give light over against the candlestick. %%% Yogera ne Alooni omugambe nti Bw'onookoleezanga ettabaaza, ettabaaza omusavu zinaayakiranga mu maaso g'ekikondo. 04NUM008.003 And Aaron did so; he lighted the lamps thereof over against the candlestick, as the LORD commanded Moses. %%% Alooni n'akola bw'atyo; yakoleeza ettabaaza zaakyo okwakiranga mu maaso g'ekikondo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM008.004 And this work of the candlestick was of beaten gold, unto the shaft thereof, unto the flowers thereof, was beaten work: according unto the pattern which the LORD had shewed Moses, so he made the candlestick. %%% Era guno gwe gwali omulimu ogw'ekikondo, mulimu gwa zaabu mpeese; okutuuka ku ntobo yaakyo, n'okutuuka ku bimuli byakyo, kyali mulimu muweese: ng'ekyokulabirako bwe kyali Mukama kye yalaga Musa, bw'atyo bwe yakola. 04NUM008.005 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM008.006 Take the Levites from among the children of Israel, and cleanse them. %%% Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obalongoose. 04NUM008.007 And thus shalt thou do unto them, to cleanse them: Sprinkle water of purifying upon them, and let them shave all their flesh, and let them wash their clothes, and so make themselves clean. %%% Era bw'onoobakola bw'oti okubalongoosa: mansira ku bo amazzi ag'okutangirira, era akamwano bakayise ku mubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beerongoose. 04NUM008.008 Then let them take a young bullock with his meat offering, even fine flour mingled with oil, and another young bullock shalt thou take for a sin offering. %%% Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka ey'okubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 04NUM008.009 And thou shalt bring the Levites before the tabernacle of the congregation: and thou shalt gather the whole assembly of the children of Israel together: %%% Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri: 04NUM008.010 And thou shalt bring the Levites before the LORD: and the children of Israel shall put their hands upon the Levites: %%% n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama: abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi: 04NUM008.011 And Aaron shall offer the Levites before the LORD for an offering of the children of Israel, that they may execute the service of the LORD. %%% Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku bw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okukola okuweereza kwa Mukama. 04NUM008.012 And the Levites shall lay their hands upon the heads of the bullocks: and thou shalt offer the one for a sin offering, and the other for a burnt offering, unto the LORD, to make an atonement for the Levites. %%% Abaleevi ne bateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe oweeyo emu okuba ekiweebwayo, olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, eri Mukama, okutangirira Abaleevi. 04NUM008.013 And thou shalt set the Levites before Aaron, and before his sons, and offer them for an offering unto the LORD. %%% N'oteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama. 04NUM008.014 Thus shalt thou separate the Levites from among the children of Israel: and the Levites shall be mine. %%% Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri: n'Abaleevi banaabanga bange. 04NUM008.015 And after that shall the Levites go in to do the service of the tabernacle of the congregation: and thou shalt cleanse them, and offer them for an offering. %%% Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobalongoosa, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa. 04NUM008.016 For they are wholly given unto me from among the children of Israel; instead of such as open every womb, even instead of the firstborn of all the children of Israel, have I taken them unto me. %%% Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi mu baana ba Isiraeri; naabeetwalira mu kifo ky'abo bonna abaggula nda, be babereberye ku baana ba Isiraeri bonna. 04NUM008.017 For all the firstborn of the children of Israel are mine, both man and beast: on the day that I smote every firstborn in the land of Egypt I sanctified them for myself. %%% Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba nga muntu oba nga nsolo: ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nabeetukuliza. 04NUM008.018 And I have taken the Levites for all the firstborn of the children of Israel. %%% Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri. 04NUM008.019 And I have given the Levites as a gift to Aaron and to his sons from among the children of Israel, to do the service of the children of Israel in the tabernacle of the congregation, and to make an atonement for the children of Israel: that there be no plague among the children of Israel, when the children of Israel come nigh unto the sanctuary. %%% Era mpadde Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni n'eri batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okukolanga okuweereza kw'abaana ba Isiraeri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga abaana ba Isiraeri: walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, abaana ba Isiraeri nga basembera mu watukuvu. 04NUM008.020 And Moses, and Aaron, and all the congregation of the children of Israel, did to the Levites according unto all that the LORD commanded Moses concerning the Levites, so did the children of Israel unto them. %%% Bw'atyo Musa bwe yakola Abaleevi ne Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa ku Baleevi, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baabakola. 04NUM008.021 And the Levites were purified, and they washed their clothes; and Aaron offered them as an offering before the LORD; and Aaron made an atonement for them to cleanse them. %%% Abaleevi ne beerongoosa mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubalongoosa. 04NUM008.022 And after that went the Levites in to do their service in the tabernacle of the congregation before Aaron, and before his sons: as the LORD had commanded Moses concerning the Levites, so did they unto them. %%% Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza kwabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be: nga Mukama bwe yali alagidde Musa ku Baleevi, bwe batyo bwe baabakola. 04NUM008.023 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM008.024 This is it that belongeth unto the Levites: from twenty and five years old and upward they shall go in to wait upon the service of the tabernacle of the congregation: %%% Bino bye by'Abaleevi: abaakamaze emyaka abiri mu etaano n'okukirawo banaayingiranga okulwanira olutalo mu mulimu ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu: 04NUM008.025 And from the age of fifty years they shall cease waiting upon the service thereof, and shall serve no more: %%% era bwe banaawezanga emyaka ataano, banaalekeranga awo okulwanira mu mulimu, nga tebakyaweereza; 04NUM008.026 But shall minister with their brethren in the tabernacle of the congregation, to keep the charge, and shall do no service. Thus shalt thou do unto the Levites touching their charge. %%% naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa, nga tebaweereza kuweereza kwonna. Bw'otyo bw'onookola Abaleevi mu ebyo bye baateresebwa. 04NUM009.001 And the LORD spake unto Moses in the wilderness of Sinai, in the first month of the second year after they were come out of the land of Egypt, saying, %%% Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, nti 04NUM009.002 Let the children of Israel also keep the passover at his appointed season. %%% Era abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa. 04NUM009.003 In the fourteenth day of this month, at even, ye shall keep it in his appointed season: according to all the rites of it, and according to all the ceremonies thereof, shall ye keep it. %%% Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakukwatiranga mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa: ng'amateeka gaakwo gonna n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli, bwe munaakukwatanga bwe mutyo. 04NUM009.004 And Moses spake unto the children of Israel, that they should keep the passover. %%% Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako. 04NUM009.005 And they kept the passover on the fourteenth day of the first month at even in the wilderness of Sinai: according to all that the LORD commanded Moses, so did the children of Israel. %%% Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri. 04NUM009.006 And there were certain men, who were defiled by the dead body of a man, that they could not keep the passover on that day: and they came before Moses and before Aaron on that day: %%% Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu, n'obutayinza ne batayinza kukwatira Kuyitako ku lunaku olwo: ne bajja mu maaso ga Musa ne Alooni ku lunaku olwo: 04NUM009.007 And those men said unto him, We are defiled by the dead body of a man: wherefore are we kept back, that we may not offer an offering of the LORD in his appointed season among the children of Israel? %%% abantu abo ne bamugamba nti Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu: ekituziyiza kiki okuwaayo ekitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri? 04NUM009.008 And Moses said unto them, Stand still, and I will hear what the LORD will command concerning you. %%% Musa n'abagamba nti Musooke muleke; ndyoke mpulire Mukama ky'anaalagira ku mmwe. 04NUM009.009 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM009.010 Speak unto the children of Israel, saying, If any man of you or of your posterity shall be unclean by reason of a dead body, or be in a journey afar off, yet he shall keep the passover unto the LORD. %%% Gamba abaana ba Isiraeri nti Omuntu yenna ku mmwe oba ku mirembe gyammwe bw'anaabanga si mulongoofu olw'omulambo, oba bw'anaabanga ali mu lugendo ewala, naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama: 04NUM009.011 The fourteenth day of the second month at even they shall keep it, and eat it with unleavened bread and bitter herbs. %%% mu mwezi ogw'okubiri ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukuswa n'enva ezikaawa: 04NUM009.012 They shall leave none of it unto the morning, nor break any bone of it: according to all the ordinances of the passover they shall keep it. %%% tebasigazangako okutuusa enkya, so tebamenyanga ggumba lyakwo: ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri bwe banaakukwatanga bwe batyo. 04NUM009.013 But the man that is clean, and is not in a journey, and forbeareth to keep the passover, even the same soul shall be cut off from among his people: because he brought not the offering of the LORD in his appointed season, that man shall bear his sin. %%% Naye omuntu omulongoofu so atali mu lugendo, n'aleka okukwata Okuyitako, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be: kubanga tawaddeeyo kitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa, omuntu oyo anaabangako ekibi kye. 04NUM009.014 And if a stranger shall sojourn among you, and will keep the passover unto the LORD; according to the ordinance of the passover, and according to the manner thereof, so shall he do: ye shall have one ordinance, both for the stranger, and for him that was born in the land. %%% Era omugenyi bw'anaatuulanga mu mmwe, n'ayagala okukwata Okuyitako eri Mukama; ng'etteeka ery'Okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe buli, bw'anaakolanga bw'atyo: munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'eri oyo eyazaalirwa mu nsi. 04NUM009.015 And on the day that the tabernacle was reared up the cloud covered the tabernacle, namely, the tent of the testimony: and at even there was upon the tabernacle as it were the appearance of fire, until the morning. %%% Awo ku lunaku enayumba kwe yasimbirwa ekire ne kibikka ku nnyumba y'eweema ey'obujulirwa: era akawungeezi ne kiba ku nnyumba ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya. 04NUM009.016 So it was alway: the cloud covered it by day, and the appearance of fire by night. %%% Bwe kyabanga bwe kityo ennaku zonna: ekire kyagibikkangako, n'ekifaananyi ky'omuliro ekiro. 04NUM009.017 And when the cloud was taken up from the tabernacle, then after that the children of Israel journeyed: and in the place where the cloud abode, there the children of Israel pitched their tents. %%% Era buli ekire lwe kyaggibwangako ku Weema, awo abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula: ne mu kifo ekire mwe kyabeeranga, awo abaana ba Isiraeri we baasiisiranga. 04NUM009.018 At the commandment of the LORD the children of Israel journeyed, and at the commandment of the LORD they pitched: as long as the cloud abode upon the tabernacle they rested in their tents. %%% Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama: ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku nnyumba baatuulanga mu lusiisira. 04NUM009.019 And when the cloud tarried long upon the tabernacle many days, then the children of Israel kept the charge of the LORD, and journeyed not. %%% Era ekire bwe kyalwanga ennaku nnyingi ku nnyumba, awo abaana ba Isiraeri ne bakwatanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula. 04NUM009.020 And so it was, when the cloud was a few days upon the tabernacle; according to the commandment of the LORD they abode in their tents, and according to the commandment of the LORD they journeyed. %%% Era oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku nnyumba; awo ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali ne batuulanga mu lusiisira, era ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali baatambulanga. 04NUM009.021 And so it was, when the cloud abode from even unto the morning, and that the cloud was taken up in the morning, then they journeyed: whether it was by day or by night that the cloud was taken up, they journeyed. %%% Era oluusi ekire kyabangako okusooka akawungeezi okutuusa enkya; era ekire bwe kyaggibwangako enkya ne batambula: oba bwe kyabangako emisana n'ekiro, ekire bwe kyaggibwangako, ne batambula. 04NUM009.022 Or whether it were two days, or a month, or a year, that the cloud tarried upon the tabernacle, remaining thereon, the children of Israel abode in their tents, and journeyed not: but when it was taken up, they journeyed. %%% Oba nga nnaku bbiri oba nga mwezi oba nga mwaka, ekire bwe kyalwanga ku nnyumba, nga kibeera okwo, abaana ba Isiraeri ne batuulanga mu lusiisira, ne batatambula: naye bwe kyaggibwangako, ne batambulanga. 04NUM009.023 At the commandment of the LORD they rested in the tents, and at the commandment of the LORD they journeyed: they kept the charge of the LORD, at the commandment of the LORD by the hand of Moses. %%% Baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama, era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yakuutira, olw'ekiragiro kya Mukama mu mukono gwa Musa. 04NUM010.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM010.002 Make thee two trumpets of silver; of a whole piece shalt thou make them: that thou mayest use them for the calling of the assembly, and for the journeying of the camps. %%% Weekolere amakondeere abiri ga ffeeza; onoogakola n'omulimu omuweese: era ganaabanga gy'oli ga kuyita kibiina, era ga kutambuza nsiisira. 04NUM010.003 And when they shall blow with them, all the assembly shall assemble themselves to thee at the door of the tabernacle of the congregation. %%% Era bwe banaagafuuwanga, ekibiina kyonna kinakuŋŋaaniranga gy'oli ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM010.004 And if they blow but with one trumpet, then the princes, which are heads of the thousands of Israel, shall gather themselves unto thee. %%% Era bwe banaafuuwanga erimu lyokka, kale abakulu, emitwe gy'enkumi za Isiraeri, banaakuŋŋaaniranga gy'oli. 04NUM010.005 When ye blow an alarm, then the camps that lie on the east parts shall go forward. %%% Era bwe munaagafuuwanga okugalaya, ensiisira eziri ku luuyi olw'ebugwanjuba zinaatambulanga. 04NUM010.006 When ye blow an alarm the second time, then the camps that lie on the south side shall take their journey: they shall blow an alarm for their journeys. %%% Era bwe munaagafuuwanga okugalaya omulundi ogw'okubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo zinaatambulanga: banaagafuuwanga okugalaya olw'okutambula kwabwe. 04NUM010.007 But when the congregation is to be gathered together, ye shall blow, but ye shall not sound an alarm. %%% Naye ekibiina bwe kinaabanga kya kukuŋŋaanyizibwa, munaafuuwanga, naye temugalayanga. 04NUM010.008 And the sons of Aaron, the priests, shall blow with the trumpets; and they shall be to you for an ordinance for ever throughout your generations. %%% Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakondeere; era ganaabanga gye muli tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. 04NUM010.009 And if ye go to war in your land against the enemy that oppresseth you, then ye shall blow an alarm with the trumpets; and ye shall be remembered before the LORD your God, and ye shall be saved from your enemies. %%% Era bwe munaatabaalanga mu nsi yammwe omulabe abajooga, kale munaafuuwanga amakondeere okugalaya; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaalokokanga mu balabe bammwe. 04NUM010.010 Also in the day of your gladness, and in your solemn days, and in the beginnings of your months, ye shall blow with the trumpets over your burnt offerings, and over the sacrifices of your peace offerings; that they may be to you for a memorial before your God: I am the LORD your God. %%% Era ku lunaku olw'essanyu lyammwe, ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, n'emyezi gyammwe we ginaasookeranga, munaafuuwanga amakondeere ago ku biweebwayo byammwe ebyokebwa ne ku ssaddaaka ez'ebyammwe ebiweebwayo olw'emirembe; era ganaabanga gye muli kijjukizo mu maaso ga Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe. 04NUM010.011 And it came to pass on the twentieth day of the second month, in the second year, that the cloud was taken up from off the tabernacle of the testimony. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okubiri, mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, ekire ne kiggibwa kungulu ku weema ey'obujulirwa. 04NUM010.012 And the children of Israel took their journeys out of the wilderness of Sinai; and the cloud rested in the wilderness of Paran. %%% Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani. 04NUM010.013 And they first took their journey according to the commandment of the LORD by the hand of Moses. %%% Ne basooka okusitula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa. 04NUM010.014 In the first place went the standard of the camp of the children of Judah according to their armies: and over his host was Nahshon the son of Amminadab. %%% Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 04NUM010.015 And over the host of the tribe of the children of Issachar was Nethaneel the son of Zuar. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Isakaali yali Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 04NUM010.016 And over the host of the tribe of the children of Zebulun was Eliab the son of Helon. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Zebbulooni yali Eriyaabu mutabani wa Keroni. 04NUM010.017 And the tabernacle was taken down; and the sons of Gershon and the sons of Merari set forward, bearing the tabernacle. %%% Ennyumba n'esimbulibwa; batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali, abeetikkanga ennyumba, ne basitula. 04NUM010.018 And the standard of the camp of Reuben set forward according to their armies: and over his host was Elizur the son of Shedeur. %%% Ebendera y'olusiisira lwa Lewubeeni n'etambula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 04NUM010.019 And over the host of the tribe of the children of Simeon was Shelumiel the son of Zurishaddai. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Simyoni yali Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 04NUM010.020 And over the host of the tribe of the children of Gad was Eliasaph the son of Deuel. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Gaadi yali Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 04NUM010.021 And the Kohathites set forward, bearing the sanctuary: and the other did set up the tabernacle against they came. %%% Abakokasi ne beetikka nga basitudde awatukuvu: bali ne basimbanga ennyumba bo nga tebannatuuka. 04NUM010.022 And the standard of the camp of the children of Ephraim set forward according to their armies: and over his host was Elishama the son of Ammihud. %%% Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi, 04NUM010.023 And over the host of the tribe of the children of Manasseh was Gamaliel the son of Pedahzur. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 04NUM010.024 And over the host of the tribe of the children of Benjamin was Abidan the son of Gideoni. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Benyamini yali Abidaani mutabani wa Gidiyooni. 04NUM010.025 And the standard of the camp of the children of Dan set forward, which was the rereward of all the camps throughout their hosts: and over his host was Ahiezer the son of Ammishaddai. %%% Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembanga ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 04NUM010.026 And over the host of the tribe of the children of Asher was Pagiel the son of Ocran. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Aseri yali Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 04NUM010.027 And over the host of the tribe of the children of Naphtali was Ahira the son of Enan. %%% N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Nafutaali yali Akira mutabani wa Enani. 04NUM010.028 Thus were the journeyings of the children of Israel according to their armies, when they set forward. %%% Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali; ne basitula. 04NUM010.029 And Moses said unto Hobab, the son of Raguel the Midianite, Moses' father in law, We are journeying unto the place of which the LORD said, I will give it you: come thou with us, and we will do thee good: for the LORD hath spoken good concerning Israel. %%% Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu ggwe ogende naffe, naffe tunaakukolanga bulungi: kubanga Mukama yayogera ebirungi ku Isiraeri. 04NUM010.030 And he said unto him, I will not go; but I will depart to mine own land, and to my kindred. %%% N'amugamba nti Sijja kugenda: naye naddayo mu nsi y'ewaffe n'eri enda zange. 04NUM010.031 And he said, Leave us not, I pray thee; forasmuch as thou knowest how we are to encamp in the wilderness, and thou mayest be to us instead of eyes. %%% N'agamba nti Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tuba tusiisiranga mu ddungu, era onoobanga gye tuli ng'amaaso. 04NUM010.032 And it shall be, if thou go with us, yea, it shall be, that what goodness the LORD shall do unto us, the same will we do unto thee. %%% Kale olunaatuukanga, bw'onoogenda naffe, weewaawo, olunaatukanga buli birungi byonna Mukama by'anaatukolanga ffe, ebyo tunaakukolanga naawe. 04NUM010.033 And they departed from the mount of the LORD three days' journey: and the ark of the covenant of the LORD went before them in the three days' journey, to search out a resting place for them. %%% Ne basitula ne bava ku lusozi lwa Mukama okutambula olugendo olw'ennaku essatu; n'essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'ebakulembera olugendo olw'ennaku essatu okubanoonyeza ekifo eky'okuwummuliramu. 04NUM010.034 And the cloud of the LORD was upon them by day, when they went out of the camp. %%% N'ekire kya Mukama kyabanga ku bo emisana, bwe baasitulanga okuva mu lusiisira. 04NUM010.035 And it came to pass, when the ark set forward, that Moses said, Rise up, LORD, and let thine enemies be scattered; and let them that hate thee flee before thee. %%% Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti Golokoka, ai Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go. 04NUM010.036 And when it rested, he said, Return, O LORD, unto the many thousands of Israel. %%% Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti Komawo, ai Mukama, eri obukumi obw'enkumi za Isiraeri. 04NUM011.001 And when the people complained, it displeased the LORD: and the LORD heard it; and his anger was kindled; and the fire of the LORD burnt among them, and consumed them that were in the uttermost parts of the camp. %%% Abantu ne baba nga beemulugunya, nga boogera bubi mu matu ga Mukama: Mukama bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwokya mu bo, ne gulya ku nkomerero y'olusiisira. 04NUM011.002 And the people cried unto Moses; and when Moses prayed unto the LORD, the fire was quenched. %%% Abantu ne bakaabira Musa; Musa n'asaba Mukama, omuliro ne gukkakkana. 04NUM011.003 And he called the name of the place Taberah: because the fire of the LORD burnt among them. %%% Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera: kubanga omuliro gwa Mukama gwayokya mu bo. 04NUM011.004 And the mixt multitude that was among them fell a lusting: and the children of Israel also wept again, and said, Who shall give us flesh to eat? %%% Awo ekibiina eky'abasenze ekyali mu bo ne batanula okwegomba: n'abaana ba Isiraeri nabo ne bakaaba amaziga nate, ne bagamba nti Ani anaatuwa ennyama okulya? 04NUM011.005 We remember the fish, which we did eat in Egypt freely; the cucumbers, and the melons, and the leeks, and the onions, and the garlick: %%% Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n'ensujju n'enva n'obutungulu n'ebyokuliira: 04NUM011.006 But now our soul is dried away: there is nothing at all, beside this manna, before our eyes. %%% naye kaakano obulanu bwaffe bukalidde ddala; tewali kintu n'akatono: tetulina kintu kye tuba twesiga wabula emmaanu eno. 04NUM011.007 And the manna was as coriander seed, and the colour thereof as the colour of bdellium. %%% Era emmaanu yaliŋŋanga ensigo za jaada, n'ekifaananyi kyayo ng'ekifaananyi kya bedola. 04NUM011.008 And the people went about, and gathered it, and ground it in mills, or beat it in a mortar, and baked it in pans, and made cakes of it: and the taste of it was as the taste of fresh oil. %%% Abantu ne batambulatambula, ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu, ne bagiggyamu emigaati: n'okuwooma kwayo kwaliŋŋanga okuwooma kw'amafuta amaggya. 04NUM011.009 And when the dew fell upon the camp in the night, the manna fell upon it. %%% Era omusulo bwe gwagwanga ku lusiisira ekiro, emmaanu n'egwanga ku gwo. 04NUM011.010 Then Moses heard the people weep throughout their families, every man in the door of his tent: and the anger of the LORD was kindled greatly; Moses also was displeased. %%% Musa n'awulira abantu nga bakaaba amaziga mu nda zaabwe zonna, buli muntu ku mulyango gw'eweema ye: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka nnyo: Musa n'anyiiga. 04NUM011.011 And Moses said unto the LORD, Wherefore hast thou afflicted thy servant? and wherefore have I not found favour in thy sight, that thou layest the burden of all this people upon me? %%% Awo Musa n'agamba Mukama nti Kiki ekikukozezza obubi omuddu wo? era kiki ekindobedde okulaba ekisa mu maaso go, n'okussaako n'onzisaako omugugu gw'abantu bano bonna? 04NUM011.012 Have I conceived all this people? have I begotten them, that thou shouldest say unto me, Carry them in thy bosom, as a nursing father beareth the sucking child, unto the land which thou swarest unto their fathers? %%% Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? nze nabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti Basitule mu kifuba kyo nga kitaawe w'omwana omulezi bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajja baabwe? 04NUM011.012 Whence should I have flesh to give unto all this people? for they weep unto me, saying, Give us flesh, that we may eat. %%% Nandiggye wa nze ennyama okugabira abantu bano bonna? kubanga bankaabira nga boogera nti Tuwe ennyama tulye. 04NUM011.014 I am not able to bear all this people alone, because it is too heavy for me. %%% Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga bayinze okunzitoowerera. 04NUM011.015 And if thou deal thus with me, kill me, I pray thee, out of hand, if I have found favour in thy sight; and let me not see my wretchedness. %%% Era bw'ononkola bw'otyo, nzitira ddala mangu ago, nkwegayiridde, oba nga ndabye ekisa mu maaso go; nneme okulaba ennaku zange. 04NUM011.016 And the LORD said unto Moses, Gather unto me seventy men of the elders of Israel, whom thou knowest to be the elders of the people, and officers over them; and bring them unto the tabernacle of the congregation, that they may stand there with thee. %%% Mukama n'agamba Musa nti Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu ab'oku bakadde ba Isiraeri, b'omanyi okuba abakadde b'abantu n'abakulu abanaabafuganga; obaleete ku weema eyokusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe. 04NUM011.017 And I will come down and talk with thee there: and I will take of the spirit which is upon thee, and will put it upon them; and they shall bear the burden of the people with thee, that thou bear it not thyself alone. %%% Nange nakka ne njogerera naawe eyo: era naatoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu wamu naawe, olemenga okugusitula ggwe wekka. 04NUM011.018 And say thou unto the people, Sanctify yourselves against to morrow, and ye shall eat flesh: for ye have wept in the ears of the LORD, saying, Who shall give us flesh to eat? for it was well with us in Egypt: therefore the LORD will give you flesh, and ye shall eat. %%% Era gamba abantu nti Mwetukulize olunaku olw'enkya, era mulirya ennyama: kubanga mukaabidde amaziga mu matu ga Mukama nga mwogera nti Ani alituwa ennyama okulya? kubanga twali bulungi mu Misiri: Mukama kyaliva abawa ennyama, ne mulya. 04NUM011.019 Ye shall not eat one day, nor two days, nor five days, neither ten days, nor twenty days; %%% Temuliriirako lunaku lumu, newakubadde ennaku ebbiri, newakubadde ennaku ettaano, newakubadde ennaku ekkumi, newakubadde ennaku abiri; 04NUM011.020 But even a whole month, until it come out at your nostrils, and it be loathsome unto you: because that ye have despised the LORD which is among you, and have wept before him, saying, Why came we forth out of Egypt? %%% naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa: kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwogera nti Ekyatuggya ki mu Misiri? 04NUM011.021 And Moses said, The people, among whom I am, are six hundred thousand footmen; and thou hast said, I will give them flesh, that they may eat a whole month. %%% Musa n'agamba nti Abantu be ndimu wakati, be basajja abatambula n'ebigere obusiriivu mukaaga: naye ogambye nti Ndibawa ennyama baliireko omwezi omulamba. 04NUM011.022 Shall the flocks and the herds be slain for them, to suffice them? or shall all the fish of the sea be gathered together for them, to suffice them? %%% Banaabattiranga endiga n'ente okubamalanga? oba balibakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja okubamalanga? 04NUM011.023 And the LORD said unto Moses, Is the LORD's hand waxed short? thou shalt see now whether my word shall come to pass unto thee or not. %%% Mukama n'agamba Musa nti Omukono gwa Mukama guyimpawadde? kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli nantiki si weewaawo. 04NUM011.024 And Moses went out, and told the people the words of the LORD, and gathered the seventy men of the elders of the people, and set them round about the tabernacle. %%% Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama: n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ab'oku bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema. 04NUM011.025 And the LORD came down in a cloud, and spake unto him, and took of the spirit that was upon him, and gave it unto the seventy elders: and it came to pass, that, when the spirit rested upon them, they prophesied, and did not cease. %%% Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku ye, n'aguteeka ku bakadde ensanvu: awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne bakomya awo. 04NUM011.026 But there remained two of the men in the camp, the name of the one was Eldad, and the name of the other Medad: and the spirit rested upon them; and they were of them that were written, but went not out unto the tabernacle: and they prophesied in the camp. %%% Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema: ne balagulira mu lusiisira. 04NUM011.027 And there ran a young man, and told Moses, and said, Eldad and Medad do prophesy in the camp. %%% Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa n'agamba nti Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira. 04NUM011.028 And Joshua the son of Nun, the servant of Moses, one of his young men, answered and said, My lord Moses, forbid them. %%% Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde, n'addamu n'agamba nti Mukama wange Musa, bagaane. 04NUM011.029 And Moses said unto him, Enviest thou for my sake? would God that all the LORD's people were prophets, and that the LORD would put his spirit upon them! %%% Musa n'agamba nti Obuggya bukukutte ku lwange? abantu bonna aba Mukama singa bannabbi, Mukama singa abateekako omwoyo gwe! 04NUM011.030 And Moses gat him into the camp, he and the elders of Israel. %%% Musa ne yeddirayo mu lusiisira, ye n'abakadde ba Isiraeri. 04NUM011.031 And there went forth a wind from the LORD, and brought quails from the sea, and let them fall by the camp, as it were a day's journey on this side, and as it were a day's journey on the other side, round about the camp, and as it were two cubits high upon the face of the earth. %%% Empewo n'efuluma eri Mukama, n'ereeta obugubi okuva ku nnyanja, n'ebugwisa mu lusiisira, ng'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luno, n'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luli, okwetooloola olusiisira, ng'emikono ebiri okutuuka ku ttaka we bwali. 04NUM011.032 And the people stood up all that day, and all that night, and all the next day, and they gathered the quails: he that gathered least gathered ten homers: and they spread them all abroad for themselves round about the camp. %%% Abantu ne bagolokoka ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya obudde obw'enkya, ne bakuŋŋaanya obugubi: eyakuŋaanya obutono, yakuŋŋaanya komeri kkumi: ne babweyanikira wonna wonna okwetooloola olusiisira. 04NUM011.033 And while the flesh was yet between their teeth, ere it was chewed, the wrath of the LORD was kindled against the people, and the LORD smote the people with a very great plague. %%% Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'akuba abantu ekibonyoobonyo kinene nnyo. 04NUM011.034 And he called the name of that place Kibrothhattaavah: because there they buried the people that lusted. %%% Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kibezosukataava: kubanga we baaziika abantu abeegomba. 04NUM011.035 And the people journeyed from Kibrothhattaavah unto Hazeroth; and abode at Hazeroth. %%% Abantu ne basitula e Kiberosukataava ne batambula ne bagenda e Kazerosi; ne batuula e Kazerosi. 04NUM012.001 And Miriam and Aaron spake against Moses because of the Ethiopian woman whom he had married: for he had married an Ethiopian woman. %%% Awo Miryamu ne Alooni ne boogera obubi ku Musa olw'omukazi Omukuusi gwe yali awasizza: kubanga yali awasizza omukazi Omukuusi. 04NUM012.002 And they said, Hath the LORD indeed spoken only by Moses? hath he not spoken also by us? And the LORD heard it. %%% Ne boogera nti Mazima Mukama yayogera ne Musa yekka? era teyayogera naffe? Mukama n'abiwulira. 04NUM012.003 (Now the man Moses was very meek, above all the men which were upon the face of the earth.) %%% Era omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna. 04NUM012.004 And the LORD spake suddenly unto Moses, and unto Aaron, and unto Miriam, Come out ye three unto the tabernacle of the congregation. And they three came out. %%% Mukama n'ayogera mangu ago ne Musa ne Alooni ne Miryamu nti Mufulume mwensatule mujje ku weema ey'okusisinkanirangamu. Abo bonsatule ne bafuluma. 04NUM012.005 And the LORD came down in the pillar of the cloud, and stood in the door of the tabernacle, and called Aaron and Miriam: and they both came forth. %%% Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'Eweema, n'ayita Alooni ne Miryamu: bombi ne bafuluma. 04NUM012.006 And he said, Hear now my words: If there be a prophet among you, I the LORD will make myself known unto him in a vision, and will speak unto him in a dream. %%% N'ayogera nti Muwulire nno ebigambo byange: oba nga munaabanga mu mmwe nabbi, nze Mukama neetegeezanga gy'ali mu kwolesebwa, naayogerereranga naye mu kirooto. 04NUM012.007 My servant Moses is not so, who is faithful in all mine house. %%% Omuddu wange Musa si bw'ali bw'atyo; oyo mwesigwa mu nnyumba yange yonna: 04NUM012.008 With him will I speak mouth to mouth, even apparently, and not in dark speeches; and the similitude of the LORD shall he behold: wherefore then were ye not afraid to speak against my servant Moses? %%% oyo naayogeranga naye akamwa n'akamwa, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'okufaanana kwa Mukama anaakulabanga: kale ekyabalobera ki okutya okwogera obubi ku muddu wange, ku Musa? 04NUM012.009 And the anger of the LORD was kindled against them; and he departed. %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bo; ne yeeviirawo. 04NUM012.010 And the cloud departed from off the tabernacle; and, behold, Miriam became leprous, white as snow: and Aaron looked upon Miriam, and, behold, she was leprous. %%% Ekire ne kiva waggulu ku Weema; era laba, Miryamu n'abaako ebigenge, ng'omuzira: Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, ng'aliko ebigenge. 04NUM012.011 And Aaron said unto Moses, Alas, my lord, I beseech thee, lay not the sin upon us, wherein we have done foolishly, and wherein we have sinned. %%% Alooni n'agamba Musa nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era nga tukoze ekibi. 04NUM012.012 Let her not be as one dead, of whom the flesh is half consumed when he cometh out of his mother's womb. %%% Nkwegayiridde aleme okuba ng'omufu, omubiri gwe nga gwonooneseeko ekitundu ng'ava mu lubuto lwa nnyina. 04NUM012.013 And Moses cried unto the LORD, saying, Heal her now, O God, I beseech thee. %%% Musa n'akaabira Mukama ng'ayogera nti Muwonye, ai Katonda, nkwegayiridde. 04NUM012.014 And the LORD said unto Moses, If her father had but spit in her face, should she not be ashamed seven days? let her be shut out from the camp seven days, and after that let her be received in again. %%% Mukama n'agamba Musa nti Kitaawe singa amuwandidde amalusu obulusu mu maaso, ensonyi tezandimukwatidde ennaku musanvu? asibirwe ebweru w'olusiisira ennaku musanvu, kale oluvannyuma alyoke ayingizibwe nate. 04NUM012.015 And Miriam was shut out from the camp seven days: and the people journeyed not till Miriam was brought in again. %%% Miryamu n'asibirwa ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: abantu ne batatambula okutuusa Miryamu lwe yayingizibwa nate. 04NUM012.016 And afterward the people removed from Hazeroth, and pitched in the wilderness of Paran. %%% Awo oluvannyuma abantu ne basitula e Kazerosi ne batambula ne basiisira mu ddungu lya Palani. 04NUM013.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Awo Mukama n'agamba Musa nti 04NUM013.002 Send thou men, that they may search the land of Canaan, which I give unto the children of Israel: of every tribe of their fathers shall ye send a man, every one a ruler among them. %%% Tuma abantu bakette ensi ya Kanani, gye mpa abaana ba Isiraeri: munaggya omuntu ku buli kika kya bakitaabwe ne mumutuma, buli muntu omukulu mu bo. 04NUM013.003 And Moses by the commandment of the LORD sent them from the wilderness of Paran: all those men were heads of the children of Israel. %%% Awo Musa n'abatuma ng'ayima mu ddungu lya Palani ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali: bonna abasajja abaali emitwe gy'abaana ba Isiraeri. 04NUM013.004 And these were their names: of the tribe of Reuben, Shammua the son of Zaccur. %%% N'amannya gaabwe ge gano: ku kika kya Lewubeeni, Semuwa mutabani wa Zakula. 04NUM013.005 Of the tribe of Simeon, Shaphat the son of Hori. %%% Ku kika kya Simyoni, Safati mutabani wa Koli. 04NUM013.006 Of the tribe of Judah, Caleb the son of Jephunneh. %%% Ku kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune. 04NUM013.007 Of the tribe of Issachar, Igal the son of Joseph. %%% Ku kika kya Isakaali, Igali mutabani wa Yusufu. 04NUM013.008 Of the tribe of Ephraim, Oshea the son of Nun. %%% Ku kika kya Efulayimu, Koseya mutabani wa Nuuni. 04NUM013.009 Of the tribe of Benjamin, Palti the son of Raphu. %%% Ku kika kya Benyamini, Paluti mutabani wa Lafu. 04NUM013.010 Of the tribe of Zebulun, Gaddiel the son of Sodi. %%% Ku kika kya Zebbulooni, Gadyeri mutabani wa Sodi. 04NUM013.011 Of the tribe of Joseph, namely, of the tribe of Manasseh, Gaddi the son of Susi. %%% Ku kika kya Yusufu, kye kika kya Manase, Gaadi mutabani wa Susi. 04NUM013.012 Of the tribe of Dan, Ammiel the son of Gemalli. %%% Ku kika kya Ddaani, Ammiyeri mutabani wa Gemali. 04NUM013.013 Of the tribe of Asher, Sethur the son of Michael. %%% Ku kika kya Aseri, Sesula mutabani wa Mikaeri. 04NUM013.014 Of the tribe of Naphtali, Nahbi the son of Vophsi. %%% Ku kika kya Nafutaali, Nakabi mutabani wa Vofesi. 04NUM013.015 Of the tribe of Gad, Geuel the son of Machi. %%% Ku kika kya Gaadi, Geweri mutabani wa Maki. 04NUM013.016 These are the names of the men which Moses sent to spy out the land. And Moses called Oshea the son of Nun Jehoshua. %%% Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi. Musa n'atuuma Koseya mutabani wa Nuuni Yoswa. 04NUM013.017 And Moses sent them to spy out the land of Canaan, and said unto them, Get you up this way southward, and go up into the mountain: %%% Musa n'abatuma okuketta ensi ya Kanani, n'abagamba nti Mwambukire mu kkubo lino ery'obukiika obwa ddyo, mulinnye ku nsozi 04NUM013.018 And see the land, what it is; and the people that dwelleth therein, whether they be strong or weak, few or many; %%% mulengere ensi bw'eri; n'abantu abagituulamu oba nga ba maanyi oba nga banafu, oba nga batono oba nga bangi; 04NUM013.019 And what the land is that they dwell in, whether it be good or bad; and what cities they be that they dwell in, whether in tents, or in strong holds; %%% era ensi bw'eri gye batuulamu, oba nga nnungi oba nga mbi; n'ebibuga bwe biri bye batuulamu, oba nga nsiisira, oba nga mu bigo; 04NUM013.020 And what the land is, whether it be fat or lean, whether there be wood therein, or not. And be ye of good courage, and bring of the fruit of the land. Now the time was the time of the firstripe grapes. %%% era ensi bw'eri, oba nga ngimu oba nga nkalu, oba nga mulimu emiti oba nga temuli. Era mugume omwoyo, muleete ku bibala byamu. Era ebiro byali biro bya zabbibu ezisooka okweagera. 04NUM013.021 So they went up, and searched the land from the wilderness of Zin unto Rehob, as men come to Hamath. %%% Awo ne bambuka, ne baketta ensi okuva ku ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu, okutuusa w'oyingirira e Kamasi 04NUM013.022 And they ascended by the south, and came unto Hebron; where Ahiman, Sheshai, and Talmai, the children of Anak, were. (Now Hebron was built seven years before Zoan in Egypt.) %%% Ne bambukira obukiika obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi, abaana ba Anaki, baali bali eyo. (Era Kebbulooni kyali kyakamaze emyaka musaavu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba Zowani ekiri mu Misiri 04NUM013.023 And they came unto the brook of Eshcol, and cut down from thence a branch with one cluster of grapes, and they bare it between two upon a staff; and they brought of the pomegranates, and of the figs. %%% Ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, ne bakisitulira ku musituliro abantu babiri; era baaleeta ne ku makomamawanga, ne ku ttiini. 04NUM013.024 The place was called the brook Eshcol, because of the cluster of grapes which the children of Israel cut down from thence. %%% Ekifo ekyo ne kiyitibwa ekiwonvu Esukoli, olw'ekirimba abaana ba Isiraeri kye baatemayo. 04NUM013.025 And they returned from searching of the land after forty days. %%% Awo ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi ennaku ana nga ziyiseewo. 04NUM013.026 And they went and came to Moses, and to Aaron, and to all the congregation of the children of Israel, unto the wilderness of Paran, to Kadesh; and brought back word unto them, and unto all the congregation, and shewed them the fruit of the land. %%% Ne batuuka ne bajja eri Musa n'eri Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, mu ddungu lya Palani, e Kadesi; ne babaddiza ebigambo bo n'ekibiina kyonna, ne babalaga ebibala by'ensi. 04NUM013.027 And they told him, and said, We came unto the land whither thou sentest us, and surely it floweth with milk and honey; and this is the fruit of it. %%% Ne bamubuulira ne bagamba nti Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo. 04NUM013.028 Nevertheless the people be strong that dwell in the land, and the cities are walled, and very great: and moreover we saw the children of Anak there. %%% Naye abantu abatuula mu nsi ba maanyi, n'ebibuga biriko enkomera, binene nnyo: era nate twalabayo abaana ba Anaki. 04NUM013.029 The Amalekites dwell in the land of the south: and the Hittites, and the Jebusites, and the Amorites, dwell in the mountains: and the Canaanites dwell by the sea, and by the coast of Jordan. %%% Amaleki atuula mu nsi ey'obukiika obwa ddyo: n'Omukiiti, n'Omuyebusi, n'Omwamoli, batuula ku nsozi: n'Omukanani atuula kumpi n'ennyanja, era ku lubalama lwa Yoludaani. 04NUM013.030 And Caleb stilled the people before Moses, and said, Let us go up at once, and possess it; for we are well able to overcome it. %%% Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula. 04NUM013.031 But the men that went up with him said, We be not able to go up against the people; for they are stronger than we. %%% Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti Tetuyinza kwambuka ku bantu abo; kubanga batukiza amaanyi. 04NUM013.032 And they brought up an evil report of the land which they had searched unto the children of Israel, saying, The land, through which we have gone to search it, is a land that eateth up the inhabitants thereof; and all the people that we saw in it are men of a great stature. %%% Ne baleeta ebigambo ebibi eby'ensi gye baali bakesse eri abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta, nsi eriira ddala abagituulamu; n'abantu bonna be twalaba omwo basajja bawanvu nnyo. 04NUM013.033 And there we saw the giants, the sons of Anak, which come of the giants: and we were in our own sight as grasshoppers, and so we were in their sight. %%% Era twalabayo Banefiri, abaana ba Anaki, abaava ku Banefiri: naffe ne tuba mu maaso gaffe ng'obwacaaka, era bwe twali mu maaso gaabwe. 04NUM014.001 And all the congregation lifted up their voice, and cried; and the people wept that night. %%% Awo ekibiina kyonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne balira; abantu ne bakaaba amaziga ekiro ekyo. 04NUM014.002 And all the children of Israel murmured against Moses and against Aaron: and the whole congregation said unto them, Would God that we had died in the land of Egypt! or would God we had died in this wilderness! %%% Abaana ba Isiraeri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni: ekibiina kyonna ne babagamba nti Singa twafiira mu nsi y'e Misiri! oba singa twafiira mu ddungu muno! 04NUM014.003 And wherefore hath the LORD brought us unto this land, to fall by the sword, that our wives and our children should be a prey? were it not better for us to return into Egypt? %%% Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago: si kye kisinga obulungi gye tuli okuddayo mu Misiri? 04NUM014.004 And they said one to another, Let us make a captain, and let us return into Egypt. %%% Ne bagambagana nti Tweteekerewo omugabe, tuddeyo mu Misiri. 04NUM014.005 Then Moses and Aaron fell on their faces before all the assembly of the congregation of the children of Israel. %%% Awo Musa ne Alooni ne bavuunama amaso gaabwe mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri. 04NUM014.006 And Joshua the son of Nun, and Caleb the son of Jephunneh, which were of them that searched the land, rent their clothes: %%% Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe: 04NUM014.007 And they spake unto all the company of the children of Israel, saying, The land, which we passed through to search it, is an exceeding good land. %%% ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo. 04NUM014.008 If the LORD delight in us, then he will bring us into this land, and give it us; a land which floweth with milk and honey. %%% Mukama oba ng'atusanyukira, kale alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki. 04NUM014.009 Only rebel not ye against the LORD, neither fear ye the people of the land; for they are bread for us: their defence is departed from them, and the LORD is with us: fear them not. %%% Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gye tuli: ekisiikirize kyabwe kiggiddwa waggulu ku bo, era Mukama ali wamu naffe: temubatya. 04NUM014.010 But all the congregation bade stone them with stones. And the glory of the LORD appeared in the tabernacle of the congregation before all the children of Israel. %%% Naye ekibiina kyonna ne balagira okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna. 04NUM014.011 And the LORD said unto Moses, How long will this people provoke me? and how long will it be ere they believe me, for all the signs which I have shewed among them? %%% Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano balituusa wa okunnyooma? era balituusa wa obutanzikiriza olw'obubonero bwonna bwe nnakolera mu bo? 04NUM014.012 I will smite them with the pestilence, and disinherit them, and will make of thee a greater nation and mightier than they. %%% N'abakuba ne kawumpuli, ne mbaggyako obusika bwabwe, ne nkuggyamu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi. 04NUM014.013 And Moses said unto the LORD, Then the Egyptians shall hear it, (for thou broughtest up this people in thy might from among them;) %%% Musa n'agamba Mukama nti Kale Abamisiri balikiwulira; kubanga waggya abantu bano mu bo n'amaanyi go n'obalinnyisa; 04NUM014.014 And they will tell it to the inhabitants of this land: for they have heard that thou LORD art among this people, that thou LORD art seen face to face, and that thy cloud standeth over them, and that thou goest before them, by day time in a pillar of a cloud, and in a pillar of fire by night. %%% ne bakibuulira abatuula mu nsi muno: baawulira nga ggwe Mukama oli wakati mu bantu bano; kubanga ggwe Mukama olabika amaaso n'amaaso, n'ekire kyo kiyimirira ku bo, n'obakulembera, mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro. 04NUM014.015 Now if thou shalt kill all this people as one man, then the nations which have heard the fame of thee will speak, saying, %%% Kale bw'onotta abantu bano ng'omuntu omu, kale amawanga agaawulira ettutumu lyo balyogera 04NUM014.016 Because the LORD was not able to bring this people into the land which he sware unto them, therefore he hath slain them in the wilderness. %%% nti Kubanga Mukama teyayinza kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabalayirira, kyeyava abattira mu ddungu. 04NUM014.017 And now, I beseech thee, let the power of my LORD be great, according as thou hast spoken, saying, %%% Kale kaakano, nkwegayiridde obuyinza bwa Mukama bubeere bungi, nga bwe wayogera 04NUM014.018 The LORD is longsuffering, and of great mercy, forgiving iniquity and transgression, and by no means clearing the guilty, visiting the iniquity of the fathers upon the children unto the third and fourth generation. %%% nti Mukama alwawo okusunguwala, era ow'okusaasira kungi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okusobya, era atalimuggyako musango n'akatono aguliko; awalana obutali butuukirivu bwa bajjajja baabwe ku baana, ku mirembe egy'okusatu n'egy'okuna. 04NUM014.019 Pardon, I beseech thee, the iniquity of this people according unto the greatness of thy mercy, and as thou hast forgiven this people, from Egypt even until now. %%% Nkwegayiridde, sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri na guno gujwa. 04NUM014.020 And the LORD said, I have pardoned according to thy word: %%% Mukama n'agamba nti Nsonyiye ng'ekigambo kyo bwe kibadde: 04NUM014.021 But as truly as I live, all the earth shall be filled with the glory of the LORD. %%% naye mazima ddala, nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi zonna bwe zirijjula ekitiibwa kya Mukama; 04NUM014.022 Because all those men which have seen my glory, and my miracles, which I did in Egypt and in the wilderness, and have tempted me now these ten times, and have not hearkened to my voice; %%% kubanga abasajja abo bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'obubonero bwange bwe nnakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bankema emirundi gino ekkumi, ne batawulira ddoboozi lyange; 04NUM014.023 Surely they shall not see the land which I sware unto their fathers, neither shall any of them that provoked me see it: %%% mazima tebaliraba nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, so tewaliba ku abo abannyooma n'omu aligiraba: 04NUM014.024 But my servant Caleb, because he had another spirit with him, and hath followed me fully, him will I bring into the land whereinto he went; and his seed shall possess it. %%% naye omuddu wange, Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimuleeta mu nsi gye yagendamu; n'ezzadde lye lirigirya. 04NUM014.025 (Now the Amalekites and the Canaanites dwelt in the valley.) Tomorrow turn you, and get you into the wilderness by the way of the Red sea. %%% Kale Omwamaleki n'Omukanani batuula mu kiwonvu: enkya mukyuke, mwegendere mu ddungu mu kkubo ery'Ennyaaja Emmyufu. 04NUM014.026 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 04NUM014.027 How long shall I bear with this evil congregation, which murmur against me? I have heard the murmurings of the children of Israel, which they murmur against me. %%% Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza. 04NUM014.028 Say unto them, As truly as I live, saith the LORD, as ye have spoken in mine ears, so will I do to you: %%% Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde mu matu gange, bwe ntyo bwe nnaabakolanga: 04NUM014.029 Your carcases shall fall in this wilderness; and all that were numbered of you, according to your whole number, from twenty years old and upward, which have murmured against me, %%% emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno; n'abo bonna abaabalibwa ku mmwe, ng'omuwendo gwammwe gwonna bwe gwali, abaali baakamaze emyaka abiri n'okukirawo, abanneemulugunyiza, 04NUM014.030 Doubtless ye shall not come into the land, concerning which I sware to make you dwell therein, save Caleb the son of Jephunneh, and Joshua the son of Nun. %%% mazima temulituuka mu nsi, gye nnayimusiriza omukono gwange okubatuuza omwo, wabula Kalebu mutabani wa Yefune, ye Yoswa mutabani wa Nuuni. 04NUM014.031 But your little ones, which ye said should be a prey, them will I bring in, and they shall know the land which ye have despised. %%% Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo ndibayingiza, nabo balimanya ensi gye mugaanyi. 04NUM014.032 But as for you, your carcases, they shall fall in this wilderness. %%% Naye mmwe, emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno. 04NUM014.033 And your children shall wander in the wilderness forty years, and bear your whoredoms, until your carcases be wasted in the wilderness. %%% N'abaana bammwe banaabanga batambuze mu ddungu okumala emyaka ana, era banaabangako obwenzi bwammwe, okutuusa emirambo gyammwe lwe girizikiririra mu ddungu. 04NUM014.034 After the number of the days in which ye searched the land, even forty days, each day for a year, shall ye bear your iniquities, even forty years, and ye shall know my breach of promise. %%% Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana, buli lunaku mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, gye myaka ana, era munaamanyanga bwe nnabaabulira. 04NUM014.035 I the LORD have said, I will surely do it unto all this evil congregation, that are gathered together against me: in this wilderness they shall be consumed, and there they shall die. %%% Nze Mukama njogedde, mazima ndikola kino ekibiina kino kyonna ekibi, abankuŋŋaaniddeko: mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira. 04NUM014.036 And the men, which Moses sent to search the land, who returned, and made all the congregation to murmur against him, by bringing up a slander upon the land, %%% N'abantu Musa be yatuma okuketta ensi, abaakomawo ne bamwemulugunyizisa ekibiina kyonna, nga baleeta ebigambo ebibi ku nsi, 04NUM014.037 Even those men that did bring up the evil report upon the land, died by the plague before the LORD. %%% abantu abo abaaleeta ebigambo ebibi eby'ensi ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama. 04NUM014.038 But Joshua the son of Nun, and Caleb the son of Jephunneh, which were of the men that went to search the land, lived still. %%% Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune ne basigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi. 04NUM014.039 And Moses told these sayings unto all the children of Israel: and the people mourned greatly. %%% Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri bonna ebigambo ebyo: abantu ne bawuubaala nnyo. 04NUM014.040 And they rose up early in the morning, and gat them up into the top of the mountain, saying, Lo, we be here, and will go up unto the place which the LORD hath promised: for we have sinned. %%% Ne bagolokoka enkya mu makya, ne beegendera ku ntikko y'olusozi nga boogera nti Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasubiza: kubanga twayonoona. 04NUM014.041 And Moses said, Wherefore now do ye transgress the commandment of the LORD? but it shall not prosper. %%% Musa n'agamba nti Kaakano musobeza ki ekiragiro kya Mukama, kubanga tekiibe na mukisa? 04NUM014.042 Go not up, for the LORD is not among you; that ye be not smitten before your enemies. %%% Temwambuka, kubanga Mukama tali mu mmwe; muleme okukubirwa ddala mu maaso g'abalabe bammwe. 04NUM014.043 For the Amalekites and the Canaanites are there before you, and ye shall fall by the sword: because ye are turned away from the LORD, therefore the LORD will not be with you. %%% Kubanga eyo Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwadda ennyuma obutagoberera Mukama, Mukama kyanaava alema okubeera nammwe. 04NUM014.044 But they presumed to go up unto the hill top: nevertheless the ark of the covenant of the LORD, and Moses, departed not out of the camp. %%% Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi: naye ssanduuko ey'endagaano ya Mukama ne Musa tebaava mu lusiisira. 04NUM014.045 Then the Amalekites came down, and the Canaanites which dwelt in that hill, and smote them, and discomfited them, even unto Hormah. %%% Awo Omwamaleki n'aserengeta, n'Omukanani eyatuula ku lusozi okwo, ne babakuba ne babaseera ddala okutuusa e Koluma. 04NUM015.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM015.002 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When ye be come into the land of your habitations, which I give unto you, %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye munaatuulangamu, gye mbawa, 04NUM015.003 And will make an offering by fire unto the LORD, a burnt offering, or a sacrifice in performing a vow, or in a freewill offering, or in your solemn feasts, to make a sweet savour unto the LORD, of the herd, or of the flock: %%% era nga mwagadde okuwaayo ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba okuba kye muwaayo ku bwammwe, oba ku mbaga zammwe ezaalagirwa, okunyookereza Mukama evvumbe eddungi, ku nte oba ku ndiga: 04NUM015.004 Then shall he that offereth his offering unto the LORD bring a meat offering of a tenth deal of flour mingled with the fourth part of an hin of oil. %%% kale oyo anaawangayo ekitone kye anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo eky'obutta eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya ini ey'amafuta: 04NUM015.005 And the fourth part of an hin of wine for a drink offering shalt thou prepare with the burnt offering or sacrifice, for one lamb. %%% n'envinnyo okuba ekiweebwayo ekyokunywa, ekitundu eky'okuna ekya ini, onootegekanga wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka, olwa buli mwana gw'endiga. 04NUM015.006 Or for a ram, thou shalt prepare for a meat offering two tenth deals of flour mingled with the third part of an hin of oil. %%% Oba olw'endiga ennume onootegekanga okuba ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta: 04NUM015.007 And for a drink offering thou shalt offer the third part of an hin of wine, for a sweet savour unto the LORD. %%% era okuba ekiweebwayo ekyokunywa onoowangayo ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'envinnyo, ey'akawoowo eri Mukama. 04NUM015.008 And when thou preparest a bullock for a burnt offering, or for a sacrifice in performing a vow, or peace offerings unto the LORD: %%% Era bw'onootegekanga ente okuba ekiweebwayo ekyokebwa oba okuba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba okuba ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama: 04NUM015.009 Then shall he bring with a bullock a meat offering of three tenth deals of flour mingled with half an hin of oil. %%% kale anaawangayo wamu n'ente ekiweebwayo eky'obutta eky'ebitundu bisatu eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu kya ini ey'amafuta. 04NUM015.010 And thou shalt bring for a drink offering half an hin of wine, for an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% Era onoowangayo okuba ekiweebwayo ekyokunywa kitundu kya ini ey'envinnyo, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'akawoowo eri Mukama. 04NUM015.011 Thus shall it be done for one bullock, or for one ram, or for a lamb, or a kid. %%% Bwe kityo bwe kinaakolebwanga olwa buli nte, oba olwa buli ndiga ennume, oba olwa buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi. 04NUM015.012 According to the number that ye shall prepare, so shall ye do to every one according to their number. %%% Ng'omuwendo gwe munaateekanga bwe gunaabanga, bwe munaakolanga bwe mutyo kinneemu ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga. 04NUM015.013 All that are born of the country shall do these things after this manner, in offering an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: 04NUM015.014 And if a stranger sojourn with you, or whosoever be among you in your generations, and will offer an offering made by fire, of a sweet savour unto the LORD; as ye do, so he shall do. %%% Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo. 04NUM015.015 One ordinance shall be both for you of the congregation, and also for the stranger that sojourneth with you, an ordinance for ever in your generations: as ye are, so shall the stranger be before the LORD. %%% Mu kibiina, wanaabangawo etteeka limu gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe, etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna: nga mmwe bwe muli, n'omugenyi bw'anaabanga bw'atyo mu maaso ga Mukama. 04NUM015.016 One law and one manner shall be for you, and for the stranger that sojourneth with you. %%% Etteeka limu n'obulombolombo bumu binaabanga gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga nammwe. 04NUM015.017 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM015.018 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When ye come into the land whither I bring you, %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwala, awo olunaatuukanga, 04NUM015.019 Then it shall be, that, when ye eat of the bread of the land, ye shall offer up an heave offering unto the LORD. %%% bwe munaalyanga ku mugaati ogw'ensi, munaawangayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama. 04NUM015.020 Ye shall offer up a cake of the first of your dough for an heave offering: as ye do the heave offering of the threshingfloor, so shall ye heave it. %%% Ku mugoyo gwammwe ogw'olubereberye kwe munaggyanga omugaati ne muguwaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa: nga bwe mukola ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omu guuliro, bwe munaakisitulanga bwe mutyo. 04NUM015.021 Of the first of your dough ye shall give unto the LORD an heave offering in your generations. %%% Ku mugoyo gwammwe ogw'olubereberye kwe munaggyanga okuwa Mukama ekiweebwayo ekisitulibwa mu mirembe gyammwe gyonna. 04NUM015.022 And if ye have erred, and not observed all these commandments, which the LORD hath spoken unto Moses, %%% Era bwe munaasobyanga ne mutakwata biragiro bino byonna, Mukama bye yabuulira Musa, 04NUM015.023 Even all that the LORD hath commanded you by the hand of Moses, from the day that the LORD commanded Moses, and henceforward among your generations; %%% byonna Mukama bye yabalagira n'omukono gwa Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yalagirirako, n'oluvannyuma lwonna mu mirembe gyammwe gyonna; 04NUM015.024 Then it shall be, if ought be committed by ignorance without the knowledge of the congregation, that all the congregation shall offer one young bullock for a burnt offering, for a sweet savour unto the LORD, with his meat offering, and his drink offering, according to the manner, and one kid of the goats for a sin offering. %%% awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temumanyiridde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna banaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa, ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 04NUM015.025 And the priest shall make an atonement for all the congregation of the children of Israel, and it shall be forgiven them; for it is ignorance: and they shall bring their offering, a sacrifice made by fire unto the LORD, and their sin offering before the LORD, for their ignorance: %%% Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga kubadde kusobya, era nga baleese ekitone kyabwe, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekyabwe ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe: 04NUM015.026 And it shall be forgiven all the congregation of the children of Israel, and the stranger that sojourneth among them; seeing all the people were in ignorance. %%% n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa nga tebamanyiridde eri abantu bonna. 04NUM015.027 And if any soul sin through ignorance, then he shall bring a she goat of the first year for a sin offering. %%% Era omuntu bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, kale anaawangayo embuzi enduusi etennamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 04NUM015.028 And the priest shall make an atonement for the soul that sinneth ignorantly, when he sinneth by ignorance before the LORD, to make an atonement for him; and it shall be forgiven him. %%% Era kabona anaatangiriranga obulamu obusobya, bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu maaso ga Mukama, okumutangirira; kale anaasonyiyibwanga. 04NUM015.029 Ye shall have one law for him that sinneth through ignorance, both for him that is born among the children of Israel, and for the stranger that sojourneth among them. %%% Munaabanga n'etteeka limu eri oyo anaakolanga ekikolwa kyonna nga tamanyiridde, eri enzaalwa mu baana ba Isiraeri, n'eri omugenyi atuula mu bo. 04NUM015.030 But the soul that doeth ought presumptuously, whether he be born in the land, or a stranger, the same reproacheth the LORD; and that soul shall be cut off from among his people. %%% Naye obulamu obunaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'avvodde Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be. 04NUM015.031 Because he hath despised the word of the LORD, and hath broken his commandment, that soul shall utterly be cut off; his iniquity shall be upon him. %%% Kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; obulamu obwo bunaazikiririzibwanga ddala, obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye. 04NUM015.032 And while the children of Israel were in the wilderness, they found a man that gathered sticks upon the sabbath day. %%% Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'alondera enku ku lunaku lwa ssabbiiti. 04NUM015.033 And they that found him gathering sticks brought him unto Moses and Aaron, and unto all the congregation. %%% N'abo abaamusanga ng'alonda enku ne bamuleetera Musa ne Alooni n'ekibiina kyonna. 04NUM015.034 And they put him in ward, because it was not declared what should be done to him. %%% Ne bamusiba, kubanga kyali tekinnategeezebwa bw'anaakolebwa. 04NUM015.035 And the LORD said unto Moses, The man shall be surely put to death: all the congregation shall stone him with stones without the camp. %%% Mukama n'agamba Musa nti Omuntu oyo taaleme kuttibwa: ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira. 04NUM015.036 And all the congregation brought him without the camp, and stoned him with stones, and he died; as the LORD commanded Moses. %%% Ekibiina kyonna ne bamutwala ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja, n'afa; nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM015.037 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM015.038 Speak unto the children of Israel, and bid them that they make them fringes in the borders of their garments throughout their generations, and that they put upon the fringe of the borders a ribband of blue: %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera amatanvuwa ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateeke omugwa ogwa kaniki ku matanvuwa agali ku buli lukugiro: 04NUM015.039 And it shall be unto you for a fringe, that ye may look upon it, and remember all the commandments of the LORD, and do them; and that ye seek not after your own heart and your own eyes, after which ye use to go a whoring: %%% era ganaabanga gye muli amatanvuuwa, mugalabenga mujjukire ebiragiro byonna ebya Mukama, mubikolenga; muleme okutambulatambula okugoberera omutima gwammwe mmwe n'amaaso gammwe mmwe, bye muyisa okugoberera okwenda nabyo: 04NUM015.040 That ye may remember, and do all my commandments, and be holy unto your God. %%% mujjukire ebiragiro byange byonna mubikole, mube batukuvu eri Katonda wammwe. 04NUM015.041 I am the LORD your God, which brought you out of the land of Egypt, to be your God: I am the LORD your God. %%% Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe. 04NUM016.001 Now Korah, the son of Izhar, the son of Kohath, the son of Levi, and Dathan and Abiram, the sons of Eliab, and On, the son of Peleth, sons of Reuben, took men: %%% Awo Koola, mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu, ne Oni, mutabani wa Peresi, batabani ba Lewubeeni, ne batwala abantu: 04NUM016.002 And they rose up before Moses, with certain of the children of Israel, two hundred and fifty princes of the assembly, famous in the congregation, men of renown: %%% ne bagolokoka mu maaso ga Musa, wamu n'abalala ab'oku baana ba Isiraeri, abakulu b'ekibiina bibiri mu ataano, abaayitibwa mu kkuŋŋaaniro, abasajja abaayatiikirira: 04NUM016.003 And they gathered themselves together against Moses and against Aaron, and said unto them, Ye take too much upon you, seeing all the congregation are holy, every one of them, and the LORD is among them: wherefore then lift ye up yourselves above the congregation of the LORD? %%% ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne ku Alooni ne babagamba nti Muyinga okwekuza, kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama? 04NUM016.004 And when Moses heard it, he fell upon his face: %%% Awo Musa bwe yakiwulira n'avuunama amaaso ge 04NUM016.005 And he spake unto Korah and unto all his company, saying, Even to morrow the LORD will shew who are his, and who is holy; and will cause him to come near unto him: even him whom he hath chosen will he cause to come near unto him. %%% n'agamba Koola ne banne bonna nti Enkya Mukama anaalaga ababe bwe bali, n'omutukuvu bw'ali, era anaamusembeza gy'ali: oyo gw'anaalonda anaamusembeza gy'ali. 04NUM016.006 This do; Take you censers, Korah, and all his company; %%% Mukole bwe muti; muddire ebyoterezo, Koola ne banne bonna; 04NUM016.007 And put fire therein, and put incense in them before the LORD to morrow: and it shall be that the man whom the LORD doth choose, he shall be holy: ye take too much upon you, ye sons of Levi. %%% muteeke omwo omuliro, mubiteekeko obubaane mu maaso ga Mukama enkya: kale olunaatuuka omuntu Mukama gw'anaalonda ye anaaba omutukuvu: muyinga okwekuza, mmwe batabani ba Leevi. 04NUM016.008 And Moses said unto Korah, Hear, I pray you, ye sons of Levi: %%% Musa n'agamba Koola nti Muwulire nno, mmwe batabani ba Leevi: 04NUM016.009 Seemeth it but a small thing unto you, that the God of Israel hath separated you from the congregation of Israel, to bring you near to himself to do the service of the tabernacle of the LORD, and to stand before the congregation to minister unto them? %%% kyali kitono gye muli Katonda wa Isiraeri okubaawula mu kibiina kya Isiraeri, okubasembeza gy'ali; okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okubaweereza: 04NUM016.010 And he hath brought thee near to him, and all thy brethren the sons of Levi with thee: and seek ye the priesthood also? %%% n'okusembeza ggwe ne bagandabo bonna batabani ba Leevi wamu naawe? era munoonya n'obwakabona? 04NUM016.011 For which cause both thou and all thy company are gathered together against the LORD: and what is Aaron, that ye murmur against him? %%% Kyemuvudde mukuŋŋaanira ku Mukama ggwe ne banno bonna: ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza? 04NUM016.012 And Moses sent to call Dathan and Abiram, the sons of Eliab: which said, We will not come up: %%% Musa n'atuma okuyita Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu: ne bagamba nti Tetujja kwambuka: 04NUM016.013 Is it a small thing that thou hast brought us up out of a land that floweth with milk and honey, to kill us in the wilderness, except thou make thyself altogether a prince over us? %%% kyali kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki n'otulinnyisa, okututtira mu ddungu, era naye n'okugwanira ne kikugwanira okwefuula omulangira ku ffe? 04NUM016.014 Moreover thou hast not brought us into a land that floweth with milk and honey, or given us inheritance of fields and vineyards: wilt thou put out the eyes of these men? we will not come up. %%% Era nate totuleese mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa nnimiro n'ensuku ez'emizabbibu: oyagala okuggyamu amaaso abantu abo? tetujja kwambuka. 04NUM016.015 And Moses was very wroth, and said unto the LORD, Respect not thou their offering: I have not taken one ass from them, neither have I hurt one of them. %%% Awo Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Mukama nti Tossaayo mwoyo eri ekyabwe ekiweebwayo: sibaggyangako na ndogoyi emu, so sikolanga bubi n'omu ku bo. 04NUM016.016 And Moses said unto Korah, Be thou and all thy company before the LORD, thou, and they, and Aaron, to morrow: %%% Musa n'agamba Koola nti Ggwe n'ekibiina kyo, kyonna mubeere mu maaso ga Mukama, ggwe nabo ne Alooni, enkya: 04NUM016.017 And take every man his censer, and put incense in them, and bring ye before the LORD every man his censer, two hundred and fifty censers; thou also, and Aaron, each of you his censer. %%% muddire buli muntu ekyoterezo kye, mubiteekeko obubaane, muleete mu maaso ga Mukama buli muntu ekyoterezo kye, ebyoterezo ebikumi bibiri mu ataano; naawe ne Alooni, buli muntu ekyoterezo kye. 04NUM016.018 And they took every man his censer, and put fire in them, and laid incense thereon, and stood in the door of the tabernacle of the congregation with Moses and Aaron. %%% Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni. 04NUM016.019 And Korah gathered all the congregation against them unto the door of the tabernacle of the congregation: and the glory of the LORD appeared unto all the congregation. %%% Koola n'akuŋŋaanyiza ku bo ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna. 04NUM016.020 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 04NUM016.021 Separate yourselves from among this congregation, that I may consume them in a moment. %%% Mweyawule wakati mu kibiina kino ndyoke mbazikirize mangu ago. 04NUM016.022 And they fell upon their faces, and said, O God, the God of the spirits of all flesh, shall one man sin, and wilt thou be wroth with all the congregation? %%% Ne bavuunama amaaso gaabwe ne bagamba nti Ai Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna? 04NUM016.023 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM016.024 Speak unto the congregation, saying, Get you up from about the tabernacle of Korah, Dathan, and Abiram. %%% Gamba ekibiina nti Mugolokoke muve ku weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu. 04NUM016.025 And Moses rose up and went unto Dathan and Abiram; and the elders of Israel followed him. %%% Musa n'agolokoka n'agenda eri Dasani ne Abiraamu; abakadde ba Isiraeri ne bamugoberera. 04NUM016.026 And he spake unto the congregation, saying, Depart, I pray you, from the tents of these wicked men, and touch nothing of theirs, lest ye be consumed in all their sins. %%% N'agamba ekibiina nti Mbeegayiridde, muve ku weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyonna ku byabwe, muleme okuzikirizibwa mu bibi byabwe byonna. 04NUM016.027 So they gat up from the tabernacle of Korah, Dathan, and Abiram, on every side: and Dathan and Abiram came out, and stood in the door of their tents, and their wives, and their sons, and their little children. %%% Awo ne bagolokoka okuva ku nnyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu, enjuyi zonna: Dasani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n'abaana baabwe abato. 04NUM016.028 And Moses said, Hereby ye shall know that the LORD hath sent me to do all these works; for I have not done them of mine own mind. %%% Musa n'agamba nti Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola. 04NUM016.029 If these men die the common death of all men, or if they be visited after the visitation of all men; then the LORD hath not sent me. %%% Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo, oba bwe balijjirwa ng'abantu bonna bwe bajjirwa; kale Mukama nga teyantuma. 04NUM016.030 But if the LORD make a new thing, and the earth open her mouth, and swallow them up, with all that appertain unto them, and they go down quick into the pit; then ye shall understand that these men have provoked the LORD. %%% Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama. 04NUM016.031 And it came to pass, as he had made an end of speaking all these words, that the ground clave asunder that was under them: %%% Awo olwatuuka, bwe yali ng'agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka ne lyatika eryali wansi weabwe: 04NUM016.032 And the earth opened her mouth, and swallowed them up, and their houses, and all the men that appertained unto Korah, and all their goods. %%% ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira, n'ennyumba zaabwe, n’abantu bonna aba Koola, n'ebintu byabwe byonna 04NUM016.033 They, and all that appertained to them, went down alive into the pit, and the earth closed upon them: and they perished from among the congregation. %%% Bwe batyo bo n'ebyabwe byonna ne bakka nga balamu mu bunnya: ensi n'ebasaanikira, ne bazikirira mu kibiina. 04NUM016.034 And all Israel that were round about them fled at the cry of them: for they said, Lest the earth swallow us up also. %%% Isiraeri yonna abaali babeetoolodde ne badduka olw'okulira kwabwe: kubanga baagamba nti Ensi ereme okutumira ffe. 04NUM016.035 And there came out a fire from the LORD, and consumed the two hundred and fifty men that offered incense. %%% Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano abaawaayo obubaane. 04NUM016.036 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM016.037 Speak unto Eleazar the son of Aaron the priest, that he take up the censers out of the burning, and scatter thou the fire yonder; for they are hallowed. %%% Gamba Eriyazaali mutabaani wa Alooni kabona, aggye ebyoterezo mu muliro, naawe ofuke eyo omuliro; kubanga bitukuvu; 04NUM016.038 The censers of these sinners against their own souls, let them make them broad plates for a covering of the altar: for they offered them before the LORD, therefore they are hallowed: and they shall be a sign unto the children of Israel. %%% ebyoterezo bya baao abaayonoona ku bulamu bwabwe bo, babifuule essowaani eziweesebwa okubikka ku kyoto: kubanga babiwaddeyo mu maaso ga Mukama, kye bibeeredde ebitukuvu: era binaabanga kabonero eri abaana ba Isiraeri. 04NUM016.039 And Eleazar the priest took the brasen censers, wherewith they that were burnt had offered; and they were made broad plates for a covering of the altar: %%% Eriyazaali kabona n'atwala ebyoterezo eby'ebikomo, abo abookeddwa bye bawaddeyo; ne babiweesa okuba ekibikka ku kyoto: 04NUM016.040 To be a memorial unto the children of Israel, that no stranger, which is not of the seed of Aaron, come near to offer incense before the LORD; that he be not as Korah, and as his company: as the LORD said to him by the hand of Moses. %%% okuba ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri, munnaggwanga yenna, atali wa zzadde lya Alooni, alemenga okusembera okunyookeza obubaane mu maaso ga Mukama; alemenga okuba nga Koola, era nga banne: Mukama nga bwe yamugamba n'omukono gwa Musa. 04NUM016.041 But on the morrow all the congregation of the children of Israel murmured against Moses and against Aaron, saying, Ye have killed the people of the LORD. %%% Naye ku lw'enkya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti Mwasse abantu ba Mukama. 04NUM016.042 And it came to pass, when the congregation was gathered against Moses and against Aaron, that they looked toward the tabernacle of the congregation: and, behold, the cloud covered it, and the glory of the LORD appeared. %%% Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira eweema ey'okusisinkanirangamu: era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika. 04NUM016.043 And Moses and Aaron came before the tabernacle of the congregation. %%% Musa ne Alooni ne bajja mu bwenyi bw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM016.044 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM016.045 Get you up from among this congregation, that I may consume them as in a moment. And they fell upon their faces. %%% Mugolokoke muve wakati mu kibiina kino, mbazikirize mangu ago. Ne bavuunama amaaso gaabwe. 04NUM016.046 And Moses said unto Aaron, Take a censer, and put fire therein from off the altar, and put on incense, and go quickly unto the congregation, and make an atonement for them: for there is wrath gone out from the LORD; the plague is begun. %%% Musa n'agamba Alooni nti Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire: kubanga obusungu bufulumye eri Mukama: kawumpuli atanudde. 04NUM016.047 And Aaron took as Moses commanded, and ran into the midst of the congregation; and, behold, the plague was begun among the people: and he put on incense, and made an atonement for the people. %%% Alooni n'addira nga Musa bwe yayogera, n'adduka n'agenda wakati mu kibiina; era, laba, kawumpuli ng'atanudde mu bantu. 04NUM016.048 And he stood between the dead and the living; and the plague was stayed. %%% N'ayimirira wakati w'abafu n'abalamu; kawumpuli n'aziyizibwa. 04NUM016.049 Now they that died in the plague were fourteen thousand and seven hundred, beside them that died about the matter of Korah. %%% N'abo abaafa kawumpuli baali kakumi mu enkumi nnya mu lusanvu, obutassaako abo abaafa olw'ebigambo bya Koola. 04NUM016.050 And Aaron returned unto Moses unto the door of the tabernacle of the congregation: and the plague was stayed. %%% Alooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: kawumpuli n'aziyizibwa. 04NUM017.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM017.002 Speak unto the children of Israel, and take of every one of them a rod according to the house of their fathers, of all their princes according to the house of their fathers twelve rods: write thou every man's name upon his rod. %%% Gamba abaana ba Isiraeri, obaggyeko emiggo, buli nnyumba ya bakitaabwe gumu, ku bakulu baabwe bonna ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, emiggo kkumi n'ebiri: wandiika erinnya lya buli muntu ku muggo gwe. 04NUM017.003 And thou shalt write Aaron's name upon the rod of Levi: for one rod shall be for the head of the house of their fathers. %%% Era onoowandiika erinnya lya Alooni ku muggo gwa Leevi: kubanga buli mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe omuggo gunaaba gumu. 04NUM017.004 And thou shalt lay them up in the tabernacle of the congregation before the testimony, where I will meet with you. %%% Era onoogitereka mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'obujulirwa, we nsisinkanira nammwe. 04NUM017.005 And it shall come to pass, that the man's rod, whom I shall choose, shall blossom: and I will make to cease from me the murmurings of the children of Israel, whereby they murmur against you. %%% Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka: nange naamalawo gye ndi okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri, kwe babeemulugunyiza. 04NUM017.006 And Moses spake unto the children of Israel, and every one of their princes gave him a rod apiece, for each prince one, according to their fathers' houses, even twelve rods: and the rod of Aaron was among their rods. %%% Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, buli mukulu gumu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, gy'emiggo kkumi n'ebiri: n'omuggo gwa Alooni gwali mu miggo gyabwe. 04NUM017.007 And Moses laid up the rods before the LORD in the tabernacle of witness. %%% Musa n'atereka emiggo mu maaso ga Mukama mu weema ey'obujulirwa. 04NUM017.008 And it came to pass, that on the morrow Moses went into the tabernacle of witness; and, behold, the rod of Aaron for the house of Levi was budded, and brought forth buds, and bloomed blossoms, and yielded almonds. %%% Awo olwatuuka enkya Musa n'ayingira mu weema ey'obujulirwa; era, laba, omuggo gwa Alooni ogw'omu nnyumba ya Leevi nga gumeze ne guloka ne gusansula ne gubala amaloozi amengevu. 04NUM017.009 And Moses brought out all the rods from before the LORD unto all the children of Israel: and they looked, and took every man his rod. %%% Musa n'afulumya emiggo gyonna eri abaana ba Isiraeri bonna ng'agiggya mu maaso ga Mukama: ne balaba, ne baddira buli muntu omuggo gwe. 04NUM017.010 And the LORD said unto Moses, Bring Aaron's rod again before the testimony, to be kept for a token against the rebels; and thou shalt quite take away their murmurings from me, that they die not. %%% Mukama n'agamba Musa nti Zzaayo omuggo gwa Alooni mu manso g'obujulirwa, okukuumibwanga okuba akabonero eri abaana b'obujeemu; omalewo okwemulugunya kwabwe ku nze, baleme okufa. 04NUM017.011 And Moses did so: as the LORD commanded him, so did he. %%% Musa bwe yakola bw'atyo: nga Mukama bwe yamulagira, bwe yakola. 04NUM017.012 And the children of Israel spake unto Moses, saying, Behold, we die, we perish, we all perish. %%% Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde. 04NUM017.013 Whosoever cometh any thing near unto the tabernacle of the LORD shall die: shall we be consumed with dying? %%% Buli anaasemberanga, anaasemberanga ku nnyumba ya Mukama, anaafanga: fenna tulizikirira. 04NUM018.001 And the LORD said unto Aaron, Thou and thy sons and thy father's house with thee shall bear the iniquity of the sanctuary: and thou and thy sons with thee shall bear the iniquity of your priesthood. %%% Mukama n'agamba Alooni nti Ggwe ne batabani bo n'ennyumba ya bakitammwe wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'awatukuvu: era ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'obwakabona bwammwe. 04NUM018.002 And thy brethren also of the tribe of Levi, the tribe of thy father, bring thou with thee, that they may be joined unto thee, and minister unto thee: but thou and thy sons with thee shall minister before the tabernacle of witness. %%% Ne baganda bo nabo, ekika kya Leevi, ekika kya kitaawo, basembeze wamu naawe, bagattibwe naawe bakuweerezenga: naye ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabanga mu maaso g'eweema ey'obujulirwa. 04NUM018.003 And they shall keep thy charge, and the charge of all the tabernacle: only they shall not come nigh the vessels of the sanctuary and the altar, that neither they, nor ye also, die. %%% Era banaakuumanga bye wateresebwa, n'ebiteresebwa eby'Eweema yonna: kyokka tebasembereranga bintu bya mu watukuvu n'ekyoto, baleme okufa, bo newakubadde mmwe. 04NUM018.004 And they shall be joined unto thee, and keep the charge of the tabernacle of the congregation, for all the service of the tabernacle: and a stranger shall not come nigh unto you. %%% Era baligattibwa naawe ne bakuuma eweema ey'okusisinkanirangamu nga bwe baateresebwa, olw'okuweereza kwonna okw'omu Weema: ne munnaggwanga tabasembereranga. 04NUM018.005 And ye shall keep the charge of the sanctuary, and the charge of the altar: that there be no wrath any more upon the children of Israel. %%% Era munaakuumanga awatukuvu nga bwe mwateresebwa, n'ekyoto nga bwe mwateresebwa: walemenga okuba obusungu nate ku baana ba Isiraeri. 04NUM018.006 And I, behold, I have taken your brethren the Levites from among the children of Israel: to you they are given as a gift for the LORD, to do the service of the tabernacle of the congregation. %%% Nange, laba, nze nziye baganda bammwe Abaleevi mu baana ba Isiraeri: bo kirabo gye muli, ekiweereddwa eri Mukama, okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM018.007 Therefore thou and thy sons with thee shall keep your priest's office for everything of the altar, and within the vail; and ye shall serve: I have given your priest's office unto you as a service of gift: and the stranger that cometh nigh shall be put to death. %%% Naawe ne batabani bo wamu naawe munaakuumiranga obwakabona bwammwe buli kintu eky'ekyoto n'ebyo ebiri munda w'eggigi; era munaaweerezanga: mbawa obwakabona okuba okuweereza kwe muweereddwa: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga. 04NUM018.008 And the LORD spake unto Aaron, Behold, I also have given thee the charge of mine heave offerings of all the hallowed things of the children of Israel; unto thee have I given them by reason of the anointing, and to thy sons, by an ordinance for ever. %%% Mukama n'agamba Alooni nti Nange, laba, nze nkuteresezza ebiweebwayo gye ndi ebisitulibwa, ebintu byonna eby'abaana ba Isiraeri ebitukuzibwa, ggwe mbiwadde olw'okufukibwako amafuta, ne batabani bo, okuba ebbanja ennaku zonna. 04NUM018.009 This shall be thine of the most holy things, reserved from the fire: every oblation of theirs, every meat offering of theirs, and every sin offering of theirs, and every trespass offering of theirs which they shall render unto me, shall be most holy for thee and for thy sons. %%% Bino bye binaabanga ebibyo ku bintu ebitukuvu ennyo, ebinaafikkangawo ku muliro: buli kitone kyabwe, buli kye bawaayo eky'obutta, na buli kye bawaayo olw'ekibi, na buli kye bawaayo olw'omusango, bye banansasulanga, binaabanga bitukuvu nnyo, bibyo era bya batabani bo. 04NUM018.010 In the most holy place shalt thou eat it; every male shall eat it: it shall be holy unto thee. %%% Onoolyangako ng'ebintu ebitukuvu ennyo; buli musajja anaalyangako: binaabanga bitukuvu gy'oli. 04NUM018.011 And this is thine; the heave offering of their gift, with all the wave offerings of the children of Israel: I have given them unto thee, and to thy sons and to thy daughters with thee, by a statute for ever: every one that is clean in thy house shall eat of it. %%% Era bino bibyo: ekirabo kyabwe kye bawaayo ekisitulibwa, byonna abaana ba Isiraeri bye bawaayo ebiwuubibwawuubibwa: mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wamu naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: buli muntu omulongoofu mu nnyumba yo anaalyangako. 04NUM018.012 All the best of the oil, and all the best of the wine, and of the wheat, the firstfruits of them which they shall offer unto the LORD, them have I given thee. %%% Amafuta gonna agasinga obulungi ne zabbibu zonna ezisinga obulungi, ne ku ŋŋaano, ebibereberye ku byo bye banaawanga Mukama, ggwe mbiwadde. 04NUM018.013 And whatsoever is first ripe in the land, which they shall bring unto the LORD, shall be thine; every one that is clean in thine house shall eat of it. %%% Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleeteranga Mukama, binaabanga bibyo; buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaalyangako. 04NUM018.014 Every thing devoted in Israel shall be thine. %%% Buli kintu ekinaawongebwanga mu Isiraeri kinaabanga kikyo. 04NUM018.015 Every thing that openeth the matrix in all flesh, which they bring unto the LORD, whether it be of men or beasts, shall be thine: nevertheless the firstborn of man shalt thou surely redeem, and the firstling of unclean beasts shalt thou redeem. %%% Buli ekinaggulanga enda, ku byonna ebirina omubiri bye bawaayo eri Mukama, oba nga muntu oba nga nsolo, binaabanga bibyo: naye omubereberye w'omuntu tolemanga kununula, n'embereberye z'ensolo ezitali nnongoofu onoonunulanga. 04NUM018.016 And those that are to be redeemed from a month old shalt thou redeem, according to thine estimation, for the money of five shekels, after the shekel of the sanctuary, which is twenty gerahs. %%% N'ebyo ebinaabanga eby'okununulibwa ku byo ebyakamaze omwezi ogumu onoonunulanga, ng'okubala kwo bwe kunaabanga, n'omuwendo ogwa sekeri ttaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri eyo ze gera abiri. 04NUM018.017 But the firstling of a cow, or the firstling of a sheep, or the firstling of a goat, thou shalt not redeem; they are holy: thou shalt sprinkle their blood upon the altar, and shalt burn their fat for an offering made by fire, for a sweet savour unto the LORD. %%% Naye embereberye y'ente, oba embereberye y'endiga, oba embereberye y'embuzi, tonunulanga; ezo ntukuvu: onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n'oyokya amasavu gaazo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, okuba evvumbe eddungi eri Mukama. 04NUM018.018 And the flesh of them shall be thine, as the wave breast and as the right shoulder are thine. %%% N'ennyama yaazo eneebanga yiyo, ng'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa era ng'ekisambi ekya ddyo, eneebanga yiyo. 04NUM018.019 All the heave offerings of the holy things, which the children of Israel offer unto the LORD, have I given thee, and thy sons and thy daughters with thee, by a statute for ever: it is a covenant of salt for ever before the LORD unto thee and to thy seed with thee. %%% Byonna ebisitulibwa ebiweebwayo ku bintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nkubiwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wamu naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: ye ndagaano ey'omunnyo eteriggwaawo mu maaso ga Mukama eri ggwe n'eri ezzadde lyo awamu naawe. 04NUM018.020 And the LORD spake unto Aaron, Thou shalt have no inheritance in their land, neither shalt thou have any part among them: I am thy part and thine inheritance among the children of Israel. %%% Mukama n'agamba Alooni nti Toobenga na busika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo: nze mugabo gwo n'obusika bwo mu baana ba Isiraeri. 04NUM018.021 And, behold, I have given the children of Levi all the tenth in Israel for an inheritance, for their service which they serve, even the service of the tabernacle of the congregation. %%% Era abaana ba Leevi, laba, mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi eby'omu Isiraeri okuba obusika, okuba empeera y'okuweereza kwabwe kwe baweereza, kwe kuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM018.022 Neither must the children of Israel henceforth come nigh the tabernacle of the congregation, lest they bear sin, and die. %%% N'okuva leero abaana ba Isiraeri tebaasembererenga weema ya kusisinkanirangamu, balemenga okubaako ekibi ne bafa. 04NUM018.023 But the Levites shall do the service of the tabernacle of the congregation, and they shall bear their iniquity: it shall be a statute for ever throughout your generations, that among the children of Israel they have no inheritance. %%% Naye Abaleevi banaakolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu, nabo banaabangako obutali butuukirivu bwabwe: lino linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, era mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika. 04NUM018.024 But the tithes of the children of Israel, which they offer as an heave offering unto the LORD, I have given to the Levites to inherit: therefore I have said unto them, Among the children of Israel they shall have no inheritance. %%% Kubanga ebitundu eby'ekkumi eby'abaana ba Isiraeri, bye bawaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, bye mbawadde Abaleevi okuba obusika: kyenvudde mbagamba nti Mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika. 04NUM018.025 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM018.026 Thus speak unto the Levites, and say unto them, When ye take of the children of Israel the tithes which I have given you from them for your inheritance, then ye shall offer up an heave offering of it for the LORD, even a tenth part of the tithe. %%% Era nate onooyogera n'Abaleevi n'obagamba nti Bwe munaasoloozanga ku baana ba Isiraeri ebitundu eby'ekkumi bye mbawadde ku bo okuba obusika bwammwe, kale munaawangayo ku byo ekiweebwaye ekisitulibwa eri Mukama, ekitundu eky'ekkumi eky'ebitundu eby'ekkumi. 04NUM018.027 And this your heave offering shall be reckoned unto you, as though it were the corn of the threshingfloor, and as the fulness of the winepress. %%% Era kye muwaayo ekisitulibwa kinaabalibwanga gye muli, ng'emmere enkalu ey'omuguuliro, era ng'ebikula mu ssogolero. 04NUM018.028 Thus ye also shall offer an heave offering unto the LORD of all your tithes, which ye receive of the children of Israel; and ye shall give thereof the LORD's heave offering to Aaron the priest. %%% Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byammwe byonna eby'ekkumi abaana ba Isiraeri bye babawa, okuwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; era munaggyanga ku byo okuwa Alooni kabona ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa. 04NUM018.029 Out of all your gifts ye shall offer every heave offering of the LORD, of all the best thereof, even the hallowed part thereof out of it. %%% Ku birabo byammwe byonna kwe munaggyanga buli ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa, ku ebyo byonna ebisinga obulungi, kye kitundu kyabyo ekitukuzibwa kye muggya ku byo. 04NUM018.030 Therefore thou shalt say unto them, When ye have heaved the best thereof from it, then it shall be counted unto the Levites as the increase of the threshingfloor, and as the increase of the winepress. %%% Kyonoova obagamba nti Bwe munaasitulanga ebisinga obulungi ku byo, kale binaabalibwanga eri Abaleevi ng'ekyengera eky'omu gguuliro, era ng'ekyengera eky'omu ssogolero. 04NUM018.031 And ye shall eat it in every place, ye and your households: for it is your reward for your service in the tabernacle of the congregation. %%% Era munaabiriiranga mu buli kifo, mmwe n'ennyumba zammwe: kubanga y'empeera yammwe olw'okuweereza kwammwe okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM018.032 And ye shall bear no sin by reason of it, when ye have heaved from it the best of it: neither shall ye pollute the holy things of the children of Israel, lest ye die. %%% So temuubengako kibi olw'ebyo, bwe munaamalanga okusitula ku byo ebisinga obulungi ku byo: so temuvumisanga bintu bitukuvu by'abaana ba Isiraeri; mulemenga okufa. 04NUM019.001 And the LORD spake unto Moses and unto Aaron, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 04NUM019.002 This is the ordinance of the law which the LORD hath commanded, saying, Speak unto the children of Israel, that they bring thee a red heifer without spot, wherein is no blemish, and upon which never came yoke: %%% Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, eteteekebwangako kikoligo: 04NUM019.003 And ye shall give her unto Eleazar the priest, that he may bring her forth without the camp, and one shall slay her before his face: %%% era munaagiwanga Eriyazaali kabona, naye anaagifulumyanga ebweru w'olusiisira, ne bagittira mu maaso ge: 04NUM019.004 And Eleazar the priest shall take of her blood with his finger, and sprinkle of her blood directly before the tabernacle of the congregation seven times: %%% awo Eriyazaali kabona anaatoolanga ku musaayi gwayo n'engalo ye, n'amansira ku musaayi gwayo okwolekera obwenyi bw'eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu 04NUM019.005 And one shall burn the heifer in his sight; her skin, and her flesh, and her blood, with her dung, shall he burn: %%% ne bookera ente mu maaso ge; eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'omusaayi gwayo wamu n'obusa bwayo anaabyokyanga: 04NUM019.006 And the priest shall take cedar wood, and hyssop, and scarlet, and cast it into the midst of the burning of the heifer. %%% kabona n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyuufu, n'abissuula wakati ente w'eyokerwa. 04NUM019.007 Then the priest shall wash his clothes, and he shall bathe his flesh in water, and afterward he shall come into the camp, and the priest shall be unclean until the even. %%% Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, kabona n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 04NUM019.008 And he that burneth her shall wash his clothes in water, and bathe his flesh in water, and shall be unclean until the even. %%% N'oyo anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 04NUM019.009 And a man that is clean shall gather up the ashes of the heifer, and lay them up without the camp in a clean place, and it shall be kept for the congregation of the children of Israel for a water of separation: it is a purification for sin. %%% N'omuntu omulongoofu anaayoolanga evvu ly'ente, n'alitereka ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era linaakuumirwanga ekibiina ky'abaana ba Isiraeri okuba amazzi ag'okwawula: ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi. 04NUM019.010 And he that gathereth the ashes of the heifer shall wash his clothes, and be unclean until the even: and it shall be unto the children of Israel, and unto the stranger that sojourneth among them, for a statute for ever. %%% N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo etteeka eritaliggwaawo. 04NUM019.011 He that toucheth the dead body of any man shall be unclean seven days. %%% Anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu: 04NUM019.012 He shall purify himself with it on the third day, and on the seventh day he shall be clean: but if he purify not himself the third day, then the seventh day he shall not be clean. %%% oyo aneerongoosanga nago ku lunaku olw'okusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu anaabanga mulongoofu: naye bw'anaalemanga okwerongoosa ku lunaku olw'okusatu, kale ku lunaku olw'omusanvu taabenga mulongoofu. 04NUM019.013 Whosoever toucheth the dead body of any man that is dead, and purifieth not himself, defileth the tabernacle of the LORD; and that soul shall be cut off from Israel: because the water of separation was not sprinkled upon him, he shall be unclean; his uncleanness is yet upon him. %%% Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ng'ayonoona ennyumba ya Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu Isiraeri: kubanga teyamansirwako mazzi ga kwawula, anaabanga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe nga bukyali ku ye. 04NUM019.014 This is the law, when a man dieth in a tent: all that come into the tent, and all that is in the tent, shall be unclean seven days. %%% Lino lye tteeka omuntu bw'anaafiiranga mu weema: buli anaayingiranga mu weema na buli anaabanga mu weema, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu. 04NUM019.015 And every open vessel, which hath no covering bound upon it, is unclean. %%% Na buli kintu kyasaamiridde, ekitaliiko kisaanikizo ekisibibwa ku kyo, si kirongoofu. 04NUM019.016 And whosoever toucheth one that is slain with a sword in the open fields, or a dead body, or a bone of a man, or a grave, shall be unclean seven days. %%% Na buli anaakomanga ku ttale ebweru ku muntu eyattibwa n'ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly'omuntu oba ku malaalo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu. 04NUM019.017 And for an unclean person they shall take of the ashes of the burnt heifer of purification for sin, and running water shall be put thereto in a vessel: %%% N'olw'atali mulongoofu banaatoolanga ku vvu ery'ekiweebwayo olw'ekibi ekyokebwa, ne bafukako amazzi agakulukuta mu kibya: 04NUM019.018 And a clean person shall take hyssop, and dip it in the water, and sprinkle it upon the tent, and upon all the vessels, and upon the persons that were there, and upon him that touched a bone, or one slain, or one dead, or a grave: %%% n'omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abaalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba oba ku oyo eyattibwa oba ku mufu oba ku malaalo: 04NUM019.019 And the clean person shall sprinkle upon the unclean on the third day, and on the seventh day: and on the seventh day he shall purify himself, and wash his clothes, and bathe himself in water, and shall be clean at even. %%% n'omulongoofu oyo anaamansiranga ku atali mulongoofu ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu: ne ku lunaku olw'omusanvu anaamulongoosanga; awo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba mulongoofu akawungeezi. 04NUM019.020 But the man that shall be unclean, and shall not purify himself, that soul shall be cut off from among the congregation, because he hath defiled the sanctuary of the LORD: the water of separation hath not been sprinkled upon him; he is unclean. %%% Naye omuntu anaabanga atali mulongoofu n'ateerongoosa, obulamu obwo bunaazikirizibwanga wakati mu kibiina, kubanga ayonoonye awatukuvu wa Mukama: amazzi ag'okwawula tegamansiddwa ku ye; si mulongoofu. 04NUM019.021 And it shall be a perpetual statute unto them, that he that sprinkleth the water of separation shall wash his clothes; and he that toucheth the water of separation shall be unclean until even. %%% Era linaabanga tteeka gye bali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okwawula anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okwawula anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 04NUM019.022 And whatsoever the unclean person toucheth shall be unclean; and the soul that toucheth it shall be unclean until even. %%% Na buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako kinaabanga ekitali kirongoofu: n'obulamu obunaakikomangako bunaabanga obutali bulongoofu. 04NUM020.001 Then came the children of Israel, even the whole congregation, into the desert of Zin in the first month: and the people abode in Kadesh; and Miriam died there, and was buried there. %%% Awo abaana ba Isiraeri, ekibiina kyonna, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogw'olubereberye: abantu ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo n'aziikibwa eyo. 04NUM020.002 And there was no water for the congregation: and they gathered themselves together against Moses and against Aaron. %%% Ne wataba mazzi ga kibiina: ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne ku Alooni. 04NUM020.003 And the people chode with Moses, and spake, saying, Would God that we had died when our brethren died before the LORD! %%% Abantu ne bawakana ne Musa ne boogera nti Singa twafa baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama! 04NUM020.004 And why have ye brought up the congregation of the LORD into this wilderness, that we and our cattle should die there? %%% Era mw'aleetera ki ekibiina kya Mukama mu ddungu muno, tufiire omwo, ffe n'ebisibo byaffe? 04NUM020.005 And wherefore have ye made us to come up out of Egypt, to bring us in unto this evil place? it is no place of seed, or of figs, or of vines, or of pomegranates; neither is there any water to drink. %%% Era mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okutuyingiza mu kifo kino ekibi? si kifo kya nsigo, so si kya ttiini, so si kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga; so tewali mazzi ga kunywa. 04NUM020.006 And Moses and Aaron went from the presence of the assembly unto the door of the tabernacle of the congregation, and they fell upon their faces: and the glory of the LORD appeared unto them. %%% Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, ne bavuunama amaaso gaabwe: ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira. 04NUM020.007 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM020.008 Take the rod, and gather thou the assembly together, thou, and Aaron thy brother, and speak ye unto the rock before their eyes; and it shall give forth his water, and thou shalt bring forth to them water out of the rock: so thou shalt give the congregation and their beasts drink. %%% Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ggwe ne Alooni muganda wo, mugambire olwazi mu maaso gaabwe, luleete amazzi gaalwo; onobaggira amazzi mu lwazi: bw'otyo bw'onoonywesa ekibiina n'ebisibo byabwe. 04NUM020.009 And Moses took the rod from before the LORD, as he commanded him. %%% Musa n'addira omuggo ng'aguggya mu maaso ga Mukama, nga bwe yamulagira. 04NUM020.010 And Moses and Aaron gathered the congregation together before the rock, and he said unto them, Hear now, ye rebels; must we fetch you water out of this rock? %%% Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, n'abagamba nti Muwulire nno, mmwe abajeemu; ffe tunaabaggira amazzi mu lwazi muno? 04NUM020.011 And Moses lifted up his hand, and with his rod he smote the rock twice: and the water came out abundantly, and the congregation drank, and their beasts also. %%% Musa n'ayimusa omukono gwe, n’akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri: amazzi mangi ne gavaamu, ekibiina ne banywa n'ebisibo byabwe. 04NUM020.012 And the LORD spake unto Moses and Aaron, Because ye believed me not, to sanctify me in the eyes of the children of Israel, therefore ye shall not bring this congregation into the land which I have given them. %%% Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Kubanga temunzikirizza, okuntukuza mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kyemuliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde. 04NUM020.013 This is the water of Meribah; because the children of Israel strove with the LORD, and he was sanctified in them. %%% Ago ge mazzi ag'e Meriba; kubanga abaana ba Isiraeri baawakana ne Mukama, n'atukuzibwa mu bo. 04NUM020.014 And Moses sent messengers from Kadesh unto the king of Edom, Thus saith thy brother Israel, Thou knowest all the travail that hath befallen us: %%% Musa n'atuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w’e Edomu, nti Bw'atyo bw'ayogera Isiraeri muganda wo, nti Omanyi ennaku zonna ezaatubaako: 04NUM020.015 How our fathers went down into Egypt, and we have dwelt in Egypt a long time; and the Egyptians vexed us, and our fathers: %%% bakitaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumala mu Misiri ebiro bingi Abamisiri ne batukola bubi ne bakitaffe: 04NUM020.016 And when we cried unto the LORD, he heard our voice, and sent an angel, and hath brought us forth out of Egypt: and, behold, we are in Kadesh, a city in the uttermost of thy border: %%% awo bwe twakaabira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika, n'atuggya mu Misiri: era, laba, tuli mu Kadesi; ekibuga ekiri ku nsalo yo enkomerero: 04NUM020.017 Let us pass, I pray thee, through thy country: we will not pass through the fields, or through the vineyards, neither will we drink of the water of the wells: we will go by the king's high way, we will not turn to the right hand nor to the left, until we have passed thy borders. %%% ka tuyite, nkwegayiridde, mu nsi yo: tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi: tunaatambuliranga mu luguudo lwa kabaka, tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tuliyita ku nsalo yo. 04NUM020.018 And Edom said unto him, Thou shalt not pass by me, lest I come out against thee with the sword. %%% Edomu n'amugamba nti Toliyita mu nze, nneme okukutabaala n'ekitala. 04NUM020.019 And the children of Israel said unto him, We will go by the high way: and if I and my cattle drink of thy water, then I will pay for it: I will only, without doing anything else, go through on my feet. %%% Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti Tulirinnyira mu luguudo: bwe tunaanywanga ku mazzi go, nze n'ebisibo byange, kale n'awanga omuwendo gwago: ka mpitemu buyisi n'ebigere. 04NUM020.020 And he said, Thou shalt not go through. And Edom came out against him with much people, and with a strong hand. %%% N'agamba nti Toliyitamu. Edomu n'amutabaala n'eggye lingi, n'omukono ogw'amaanyi. 04NUM020.021 Thus Edom refused to give Israel passage through his border: wherefore Israel turned away from him. %%% Bw'atyo Edomu n'agaana okuyisa Isiraeri mu nsalo ye Isiraeri kyeyava akyuka okuva gy'ali. 04NUM020.022 And the children of Israel, even the whole congregation, journeyed from Kadesh, and came unto mount Hor. %%% Ne basitula e Kadesi ne batambula: abaana ba Isiraeri, ekibiina kyonna, ne batuuka ku lusozi Koola. 04NUM020.023 And the LORD spake unto Moses and Aaron in mount Hor, by the coast of the land of Edom, saying, %%% Mukama n'agambira Musa ne Alooni ku lusozi Koola, ku nsalo y'ensi ya Edomu, ng'ayogera 04NUM020.024 Aaron shall be gathered unto his people: for he shall not enter into the land which I have given unto the children of Israel, because ye rebelled against my word at the water of Meribah. %%% nti Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be: kubanga taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubanga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba. 04NUM020.025 Take Aaron and Eleazar his son, and bring them up unto mount Hor: %%% Twala Alooni ne Eriyazaali mutabaai we, obalinnyise ku lusozi Koola: 04NUM020.026 And strip Aaron of his garments, and put them upon Eleazar his son: and Aaron shall be gathered unto his people, and shall die there. %%% Alooni omwambuleko ebyambalo bye, obimwambaze Eriyazaali mutabani we: kale Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be, era aaaafiira eyo. 04NUM020.027 And Moses did as the LORD commanded: and they went up into mount Hor in the sight of all the congregation. %%% Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira: ne balinnya ku lusozi Koola mu maaso g'ekibiina kyonna. 04NUM020.028 And Moses stripped Aaron of his garments, and put them upon Eleazar his son; and Aaron died there in the top of the mount: and Moses and Eleazar came down from the mount. %%% Musa n'ayambula Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we; Alooni n’afiira eyo ku ntikko y'olusozi: Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bava ku lusozi. 04NUM020.029 And when all the congregation saw that Aaron was dead, they mourned for Aaron thirty days, even all the house of Israel. %%% Awo ekibiina kyonna bwe baalaba nga Alooni afudde, ne bamala ennaku asatu nga bakaabira Alooni, ennyumba ya Isiraeri yonna. 04NUM021.001 And when king Arad the Canaanite, which dwelt in the south, heard tell that Israel came by the way of the spies; then he fought against Israel, and took some of them prisoners. %%% N'Omukanani, kabaka w’e Yaladi, eyatuulanga mu bukiika obwa ddyo, n'awulira nga Isiraeri ajja mu kkubo lya Asalimu; n'alwana ne Isiraeri n'awamba abamu ku bo. 04NUM021.002 And Israel vowed a vow unto the LORD, and said, If thou wilt indeed deliver this people into my hand, then I will utterly destroy their cities. %%% Isiraeri ne yeeyama obweyamo eri Mukama, n'agamba nti Bw'onoogabulira ddala abantu bano mu mukono gwange, ndizikiririza ddala ebibuga byabwe. 04NUM021.003 And the LORD hearkened to the voice of Israel, and delivered up the Canaanites; and they utterly destroyed them and their cities: and he called the name of the place Hormah. %%% Mukama n'awulira eddoboozi lya Isiraeri, n'agabula Abakanani; ne babazikiririza ddala bo n'ebibuga byabwe: ekifo ne kituumibwa erinnya lyakyo Koluma. 04NUM021.004 And they journeyed from mount Hor by the way of the Red sea, to compass the land of Edom: and the soul of the people was much discouraged because of the way. %%% Ne basitula okuva ku lusozi Koola ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu: obulamu bw'abantu ne bukeŋŋentererwa nnyo olw'olugendo. 04NUM021.005 And the people spake against God, and against Moses, Wherefore have ye brought us up out of Egypt to die in the wilderness? for there is no bread, neither is there any water; and our soul loatheth this light bread. %%% Abantu ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa, nti Mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okufiira mu ddungu? kubanga tewali kyakulya, so tewali mazzi; n'obulamu bwaffe butamiddwa ekyokulya kino ekyangu. 04NUM021.006 And the LORD sent fiery serpents among the people, and they bit the people; and much people of Israel died. %%% Mukama n'asindikira abantu emisota egy'omuliro, ne giruma abantu; abantu bangi ne bafa ku Isiraeri. 04NUM021.007 Therefore the people came to Moses, and said, We have sinned, for we have spoken against the LORD, and against thee; pray unto the LORD, that he take away the serpents from us. And Moses prayed for the people. %%% Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti Twonoonye kubanga twayogera obubi ku Mukama ne ku ggwe; saba Mukama atuggyeko emisota. Musa n'asabira abantu. 04NUM021.008 And the LORD said unto Moses, Make thee a fiery serpent, and set it upon a pole: and it shall come to pass, that every one that is bitten, when he looketh upon it, shall live. %%% Mukama n'agamba Musa nti Weekolere omusota ogw'omuliro, oguteeke ku mulongooti: awo olunaatuuka, buli alumiddwa bw'anaagulaba, anaaba mulamu. 04NUM021.009 And Moses made a serpent of brass, and put it upon a pole, and it came to pass, that if a serpent had bitten any man, when he beheld the serpent of brass, he lived. %%% Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguteeka ku mulongooti: awo olwatuuka amusota bwe gwabanga gulumye omuntu yenna, bwe yatunuulira omusota ogw'ekikomo, n'aba mulamu. 04NUM021.010 And the children of Israel set forward, and pitched in Oboth. %%% Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu Obosi. 04NUM021.011 And they journeyed from Oboth, and pitched at Ijeabarim, in the wilderness which is before Moab, toward the sunrising. %%% Ne basitula e Obosi ne batambula ne basiisira mu Iyeabalimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku luuyi olw'ebuvanjuba. 04NUM021.012 From thence they removed, and pitched in the valley of Zared. %%% Ne bavaayo, ne batambula, ne basiisira mu kiwonvu kya Zeredi. 04NUM021.013 From thence they removed, and pitched on the other side of Arnon, which is in the wilderness that cometh out of the coasts of the Amorites: for Arnon is the border of Moab, between Moab and the Amorites. %%% Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala wa Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamooli: kubanga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, wakati wa Mowaabu n'Abamooli. 04NUM021.014 Wherefore it is said in the book of the wars of the LORD, What he did in the Red sea, and in the brooks of Arnon, %%% Kyekyava kyogerwa mu kitabo eky'Entalo za Mukama nti Vakebu mu Sufa N'ebiwonvu bya Alunoni, 04NUM021.015 And at the stream of the brooks that goeth down to the dwelling of Ar, and lieth upon the border of Moab. %%% N'ebikko eby'ebiwonvu Ebiserengetera eri ennyumba za Ali, Era ebyesigama ku nsalo ya Mowaabu. 04NUM021.016 And from thence they went to Beer: that is the well whereof the LORD spake unto Moses, Gather the people together, and I will give them water. %%% Ne bavaayo ne batambula ne bagenda e Beeri: olwo lwe luzzi Mukama lwe yabuulirako Musa nti Kuŋŋaanya abantu, nange nnaabawa amazzi. 04NUM021.017 Then Israel sang this song, Spring up, O well; sing ye unto it: %%% Isiraeri n'alyoka ayimba oluyimba luno: Weesere, ggwe oluzzi; muluyimbire; 04NUM021.018 The princes digged the well, the nobles of the people digged it, by the direction of the lawgiver, with their staves. And from the wilderness they went to Mattanah: %%% Oluzzi abakulu lwe baasima, Abakungu b'abantu lwe baayerula, N'omuggo ogw'obwakabaka, n'emiggo gyabwe. Ne bava mu ddungu ne batambula ne bagenda e Matana: 04NUM021.019 And from Mattanah to Nahaliel: and from Nahaliel to Bamoth: %%% ne basitula e Matana ne bagenda e Nakalieri: ne basitula e Nakalieri ne bagenda e Bamosi: 04NUM021.020 And from Bamoth in the valley, that is in the country of Moab, to the top of Pisgah, which looketh toward Jeshimon. %%% ne basitula e Bamosi ne bagenda mu kiwonvu ekiri ku ttale lya Mowaabu, ku ntikko ya Pisuga, kw'oyima okulengera eddungu. 04NUM021.021 And Israel sent messengers unto Sihon king of the Amorites, saying, %%% Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli ng'ayogera nti 04NUM021.022 Let me pass through thy land: we will not turn into the fields, or into the vineyards; we will not drink of the waters of the well: but we will go along by the king's high way, until we be past thy borders. %%% Ka mpite mu nsi yo: tetulikyamira mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu; tetulinywa ku mazzi ga nzizi: tulitambulira mu luguudo lwa kabaka, okutuusa lwe tuliyita mu nsalo yo. 04NUM021.023 And Sihon would not suffer Israel to pass through his border: but Sihon gathered all his people together, and went out against Israel into the wilderness: and he came to Jahaz, and fought against Israel. %%% Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsalo ye naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'atabaala Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi: n'alwana ne Isiraeri. 04NUM021.024 And Israel smote him with the edge of the sword, and possessed his land from Arnon unto Jabbok, even unto the children of Ammon: for the border of the children of Ammon was strong. %%% Isiraeri n'amukuba n'obwogi bw'ekitala, n'alya ensi ye okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, okutuuka ku baana ba Amotu: kubanga ensalo ey'abaana ba Amoni yali ya maanyi. 04NUM021.025 And Israel took all these cities: and Israel dwelt in all the cities of the Amorites, in Heshbon, and in all the villages thereof. %%% Isiraeri n'alya ebibuga ebyo byonna: Isiraeri n'atuula mu bibuga byonna eby'Abamoli, mu Kesuboni ne mu bibuga byakyo byonna. 04NUM021.026 For Heshbon was the city of Sihon the king of the Amorites, who had fought against the former king of Moab, and taken all his land out of his hand, even unto Arnon. %%% Kubanga Kesuboni kyali kibuga kya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyalwana ne kabaka wa Mowaabu eyasooka, n'aggya mu mukono gwe ensi yonna, okutuuka ku Alunoni. 04NUM021.027 Wherefore they that speak in proverbs say, Come into Heshbon, let the city of Sihon be built and prepared: %%% Aboogerera mu ngero kyebaava boogera nti Mujje e Kesuboni, Ekibuga kya Sikono kizimbibwe kinywezebwe: 04NUM021.028 For there is a fire gone out of Heshbon, a flame from the city of Sihon: it hath consumed Ar of Moab, and the lords of the high places of Arnon. %%% Kubanga omuliro gufulumye mu Kesuboni, Ennimi z'omuliro mu kibuga kya Sikoni: Gwokezza Ali ekya Mowaabu, Abakungu ab'ebifo ebigulumivu ebya Alunoni. 04NUM021.029 Woe to thee, Moab! thou art undone, O people of Chemosh: he hath given his sons that escaped, and his daughters, into captivity unto Sihon king of the Amorites. %%% Zikusanze, Mowaabu! Mufudde, mmwe abantu ba Kemosi : Agabudde batabani be okuba abadduse, Ne bawala be okuba abasibe, Eri Sikoni kabaka w'Abamoli. 04NUM021.030 We have shot at them; Heshbon is perished even unto Dibon, and we have laid them waste even unto Nophah, which reacheth unto Medeba. %%% Twabasimbako; Kesuboni kyazikirira okutuuka ku Diboni, Era twazisa okutuuka ku Nofa, Ekituuka ku Medeba. 04NUM021.031 Thus Israel dwelt in the land of the Amorites. %%% Isiraeri n'atuula bw'atyo mu nsi y'Abamoli. 04NUM021.032 And Moses sent to spy out Jaazer, and they took the villages thereof, and drove out the Amorites that were there. %%% Musa n'atuma okuketta Yazeri, ne balya ebibuga byayo, ne bagobamu Abamoli abaali eyo. 04NUM021.033 And they turned and went up by the way of Bashan: and Og the king of Bashan went out against them, he, and all his people, to the battle at Edrei. %%% Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo ly'e Basani: Ogi kabaka We Basani n'abatabaala, ye n'abantu be bonna okulwanira nabo e Derei. 04NUM021.034 And the LORD said unto Moses, Fear him not: for I have delivered him into thy hand, and all his people, and his land; and thou shalt do to him as thou didst unto Sihon king of the Amorites, which dwelt at Heshbon. %%% Mukama n'agamba Musa nti Tomutya: kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni. 04NUM021.035 So they smote him, and his sons, and all his people, until there was none left him alive: and they possessed his land. %%% Awo ne bamutta ne batabani be, n'abantu be bonna, ne watamusigalirawo n'omu: ne balya ensi ye. 04NUM022.001 And the children of Israel set forward, and pitched in the plains of Moab on this side Jordan by Jericho. %%% Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu emitala wa Yoludaani e Yeriko. 04NUM022.002 And Balak the son of Zippor saw all that Israel had done to the Amorites. %%% Awo Balaki mutabani wa Zipoli n'alaba byonna Isiraeri bye yali akoze Abamoli. 04NUM022.003 And Moab was sore afraid of the people, because they were many: and Moab was distressed because of the children of Israel. %%% Mowaabu n'atya nnyo abantu, kubanga bangi: Mowaabu n'akeŋŋentererwa olw'abaana ba Isiraeri. 04NUM022.004 And Moab said unto the elders of Midian, Now shall this company lick up all that are round about us, as the ox licketh up the grass of the field. And Balak the son of Zippor was king of the Moabites at that time. %%% Mowaabu n'agamba abakadde ba Midiyaani nti Kaakano ekibiina kino kigenda kukombera ddala byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'ekomba omuddo ogw'oku ttale. Era Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu biro ebyo. 04NUM022.005 He sent messengers therefore unto Balaam the son of Beor to Pethor, which is by the river of the land of the children of his people, to call him, saying, Behold, there is a people come out from Egypt: behold, they cover the face of the earth, and they abide over against me: %%% N’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, e Pesoli, ekiri ku lubalama lw'Omugga, mu nsi y'abaana b'abantu be, okumuyita ng'ayogera nti Laba, waliwo abantu abaava mu Misiri: laba, basaanikidde ku maaso g'ensi, era batudde okunjolekera: 04NUM022.006 Come now therefore, I pray thee, curse me this people; for they are too mighty for me: peradventure I shall prevail, that we may smite them, and that I may drive them out of the land: for I wot that he whom thou blessest is blessed, and he whom thou cursest is cursed. %%% kale nno jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano: kubanga bannyinze amaanyi: mpozzi ndiwangula, tubatte, mbagobe mu nsi: kubanga mmanyi nga gw'osabira ggwe omukisa aweebwa omukisa, ne gw'okolimira akolimirwa. 04NUM022.007 And the elders of Moab and the elders of Midian departed with the rewards of divination in their hand; and they came unto Balaam, and spake unto him the words of Balak. %%% Abakadde ba Mowaabu n'abakadde ba Midiyaani ne bagenda nga balina omukemba mu ngalo zaabwe; ne bajja eri Balamu, ne bamubuulira ebigambo bya Balaki. 04NUM022.008 And he said unto them, Lodge here this night, and I will bring you word again, as the LORD shall speak unto me: and the princes of Moab abode with Balaam. %%% N'abagamba nti Musule wano ekiro kino, nange ndibaddiza ebigambo nga Mukama bw'anaŋŋamba: abakulu ba Mowaabu ne babeera ewa Balamu. 04NUM022.009 And God came unto Balaam, and said, What men are these with thee? %%% Katonda n'ajja eri Balamu n'agamba nti Bantu ki bano abali naawe? 04NUM022.010 And Balaam said unto God, Balak the son of Zippor, king of Moab, hath sent unto me, saying, %%% Balamu n'agamba Katonda nti Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu, yantumira ng'ayogera nti 04NUM022.011 Behold, there is a people come out of Egypt, which covereth the face of the earth: come now, curse me them; peradventure I shall be able to overcome them, and drive them out. %%% Laba, abantu abaava mu Misiri basaanikidde ku maaso g'ensi: Jjangu nno, obankolimirire; mpozzi ndiyinza okulwana nabo, ne mbagoba. 04NUM022.012 And God said unto Balaam, Thou shalt not go with them; thou shalt not curse the people: for they are blessed. %%% Katonda n'agamba Balamu nti Togenda nabo; tokolimira bantu abo: kubanga baweereddwa omukisa. 04NUM022.013 And Balaam rose up in the morning, and said unto the princes of Balak, Get you into your land: for the LORD refuseth to give me leave to go with you. %%% Balamu n'agolokoka enkya, n'agamba abakulu ba Balaki nti Mwegendere mu nsi yammwe: kubanga Mukama agaanyi okundagira okugenda nammwe. 04NUM022.014 And the princes of Moab rose up, and they went unto Balak, and said, Balaam refuseth to come with us. %%% Abakulu ba Mowaabu ne bagolokoka, ne baddayo eri Balaki, ne bagamba nti Balamu agaanyi okujja naffe. 04NUM022.015 And Balak sent yet again princes, more, and more honourable than they. %%% Balaki ne yeeyongera nate okutuma abakulu, abaasinga abo obungi era abaabasinga n'ekitiibwa. 04NUM022.016 And they came to Balaam, and said to him, Thus saith Balak the son of Zippor, Let nothing, I pray thee, hinder thee from coming unto me: %%% Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti Waleme okubaawo ekintu, nkwegayiridde, ekinaakuziyiza okujja gye ndi: 04NUM022.017 For I will promote thee unto very great honour, and I will do whatsoever thou sayest unto me: come therefore, I pray thee, curse me this people. %%% kubanga ndikukuza n'obeera n'ekitiibwa kinene nnyo, na buli ky'oliŋŋamba ndikikola: kale jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano. 04NUM022.018 And Balaam answered and said unto the servants of Balak, If Balak would give me his house full of silver and gold, I cannot go beyond the word of the LORD my God, to do less or more. %%% Balamu n’addamu n’agamba abaddu ba Balaki nti Balaki bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukendeezaako oba okusukkiriza. 04NUM022.019 Now therefore, I pray you, tarry ye also here this night, that I may know what the LORD will say unto me more. %%% Kale nno, mbeegayiridde nammwe musule wano ekiro kino, ndyoke mmanye Mukama ky'aneeyongera okumbuulira. 04NUM022.020 And God came unto Balaam at night, and said unto him, If the men come to call thee, rise up, and go with them; but yet the word which I shall say unto thee, that shalt thou do. %%% Katonda n’ajja eri Balamu ekiro, n'amugamba nti Abantu abo oba nga bazze okukuyita, golokoka ogende nabo; naye ekigambo kyokka kye nkubuulira ky'oba okola. 04NUM022.021 And Balaam rose up in the morning, and saddled his ass, and went with the princes of Moab. %%% Balamu n'agolokoka enkya n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'agenda n'abakulu ba Mowaabu. 04NUM022.022 And God's anger was kindled because he went: and the angel of the LORD stood in the way for an adversary against him. Now he was riding upon his ass, and his two servants were with him. %%% Obusungu bwa Katonda ne bubuubuuka kubanga yagenda: malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Era yali yeebagadde ku ndogoyi ye, n'abaddu be bombi baali naye. 04NUM022.023 And the ass saw the angel of the LORD standing in the way, and his sword drawn in his hand: and the ass turned aside out of the way, and went into the field: and Balaam smote the ass, to turn her into the way. %%% Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: endogoyi n'ekyama okuva mu kkubo, n'egenda ku nsiko: Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo. 04NUM022.024 But the angel of the LORD stood in a path of the vineyards, a wall being on this side, and a wall on that side. %%% Malayika wa Mukama n'alyoka ayimirira mu kkubo ery'omu kiwonvu eriri wakati w'ensuku z'emizabbibu olukomera nga luli ku luuyi, n'olukomera ku luuyi. 04NUM022.025 And when the ass saw the angel of the LORD, she thrust herself unto the wall, and crushed Balaam's foot against the wall: and he smote her again. %%% Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku lukomera, n'ebetenta ekigere kya Balamu ku lukomera: n'agikuba nate. 04NUM022.026 And the angel of the LORD went further, and stood in a narrow place, where was no way to turn either to the right hand or to the left. %%% Malayika wa Mukama ne yeeyongera okusembera eyo, n'ayimirira mu kkubo ery'akanyigo, awataali bbanga lya kukyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono. 04NUM022.027 And when the ass saw the angel of the LORD, she fell down under Balaam: and Balaam's anger was kindled, and he smote the ass with a staff. %%% Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, n'egalamira wansi wa Balamu: obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n'akuba endogoyi n'omuggo gwe. 04NUM022.028 And the LORD opened the mouth of the ass, and she said unto Balaam, What have I done unto thee, that thou hast smitten me these three times? %%% Mukama n'ayasamya akamwa k'endogoyi, n'egamba Balamu nti Nkukoze ki ggwe okunkuba emirundi gino gyonsatule? 04NUM022.029 And Balaam said unto the ass, Because thou hast mocked me: I would there were a sword in mine hand, for now would I kill thee. %%% Balamu n'agamba endogoyi nti Kubanga onduulidde: singa mbadde n'ekitala mu ngalo zange, kaakano nandikusse. 04NUM022.030 And the ass said unto Balaam, Am not I thine ass, upon which thou hast ridden ever since I was thine unto this day? was I ever wont to do so unto thee? And he said, Nay. %%% Endogoyi n'egamba Balamu nti Siri ndogoyi yo, gye weebagalako obulamu bwo bwonna okutuusa leero? nali mpisizza okukukola bwe ntyo? N'agamba nti Nedda. 04NUM022.031 Then the LORD opened the eyes of Balaam, and he saw the angel of the LORD standing in the way, and his sword drawn in his hand: and he bowed down his head, and fell flat on his face. %%% Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: n'akutama omutwe gwe, n'avuunama amaaso ge. 04NUM022.032 And the angel of the LORD said unto him, Wherefore hast thou smitten thine ass these three times? behold, I went out to withstand thee, because thy way is perverse before me: %%% Malayika wa Mukama n'amugamba nti Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? laba, nfulumye okukuziyiza, kubanga okutambula kwo kukakanyavu mu maaso gange. 04NUM022.033 And the ass saw me, and turned from me these three times: unless she had turned from me, surely now also I had slain thee, and saved her alive. %%% Endogoyi n'endaba n'ekyuka mu maaso gange emirundi gino gyonsatule: singa tekyuse mu maaso gange, kaakano sandiremye kukutta ggwe, nayo ne ngiwonya okufa. 04NUM022.034 And Balaam said unto the angel of the LORD, I have sinned; for I knew not that thou stoodest in the way against me: now therefore, if it displease thee, I will get me back again. %%% Balamu n'agamba malayika wa Mukama nti Nnyonoonye; kubanga saamanye ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza: kale kaakano, oba nga kikunyiiza, naddayo nate. 04NUM022.035 And the angel of the LORD said unto Balaam, Go with the men: but only the word that I shall speak unto thee, that thou shalt speak. So Balaam went with the princes of Balak. %%% Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti Genda n'abantu abo: naye ekigambo kyokka kye nnaakubuulira ky'oba oyogera. Awo Balamu n'agenda n'abakulu ba Balaki. 04NUM022.036 And when Balak heard that Balaam was come, he went out to meet him unto a city of Moab, which is in the border of Arnon, which is in the utmost coast. %%% Awo Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'afuluma okumusisinkana mu Kibuga kya Mowaabu, ekiri ku nsalo ya Alunoni, oguli ku nkomerero y'ensalo. 04NUM022.037 And Balak said unto Balaam, Did I not earnestly send unto thee to call thee? wherefore camest thou not unto me? am I not able indeed to promote thee to honour? %%% Balaki n'agamba Balamu nti Saakutumira okukuyita ne nkutayirira? ekyakulobera okujja gye ndi ki? siyinza ddala kukukuza n'obeera n'ekitiibwa? 04NUM022.038 And Balaam said unto Balak, Lo, I am come unto thee: have I now any power at all to say any thing? the word that God putteth in my mouth, that shall I speak. %%% Balamu n'agamba Balaki nti Laba, nzize gy'oli: kaakano nnina obuyinza bwonna okwogera ekigambo kyonna? ekigambo Katonda ky'anaateeka mu kamwa kange, ekyo kye nnaayogera. 04NUM022.039 And Balaam went with Balak, and they came unto Kirjathhuzoth. %%% Balamu n’agenda ne Balaki, ne bajja e Kiriasikuzosi. 04NUM022.040 And Balak offered oxen and sheep, and sent to Balaam, and to the princes that were with him. %%% Balaki n'awaayo ente n'endiga, n'atumiza Balamu n'abakulu abaali naye. 04NUM022.041 And it came to pass on the morrow, that Balak took Balaam, and brought him up into the high places of Baal, that thence he might see the utmost part of the people. %%% Awo olwatuuka enkya, Balaki n’atwala Balamu, n'amulinnyisa ku bifo ebigulumivu ebya Baali, n'ayima eyo okulengera enkomerero y'abantu. 04NUM023.001 And Balaam said unto Balak, Build me here seven altars, and prepare me here seven oxen and seven rams. %%% Balamu n'agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu. 04NUM023.002 And Balak did as Balaam had spoken; and Balak and Balaam offered on every altar a bullock and a ram. %%% Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera; Balaki ne Balamu ne baweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume. 04NUM023.003 And Balaam said unto Balak, Stand by thy burnt offering, and I will go: peradventure the LORD will come to meet me: and whatsoever he sheweth me I will tell thee. And he went to an high place. %%% Balamu n'agamba Balaki nti Yimirira awali ekyokebwa kw'owaayo nange naagenda; mpozzi Mukama anajja okusisinkana nange: era buli ky'anandaga naakikubuulira. N'agenda ku lusozi aweeru. 04NUM023.004 And God met Balaam: and he said unto him, I have prepared seven altars, and I have offered upon every altar a bullock and a ram. %%% Katonda n'asisinkana ne Balamu: n’amugamba nti Ntegese ebyoto omusanvu, era mpeereddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto. 04NUM023.005 And the LORD put a word in Balaam's mouth, and said, Return unto Balak, and thus thou shalt speak. %%% Mukama n'ateeka ekigambo mu kamwa ka Balamu, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'otyo bw'onooyogera. 04NUM023.006 And he returned unto him, and, lo, he stood by his burnt sacrifice, he, and all the princes of Moab. %%% N'addayo eri ye, era yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ye n'abakulu bonna aba Mowaabu. 04NUM023.007 And he took up his parable, and said, Balak the king of Moab hath brought me from Aram, out of the mountains of the east, saying, Come, curse me Jacob, and come, defy Israel. %%% N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balaki yanziya mu Alamu, Kabaka wa Mowaabu yanziya mu nsozi ez'Ebuvanjuba: Jjangu okolimirire Yakobo, Era jjangu osoomoze Isiraeri. 04NUM023.008 How shall I curse, whom God hath not cursed? or how shall I defy, whom the LORD hath not defied? %%% Naakolimira ntya oyo Katonda gw'atakolimiranga? Naasoomoza ntya oyo Katonda gw'atasoomozanga? 04NUM023.009 For from the top of the rocks I see him, and from the hills I behold him: lo, the people shall dwell alone, and shall not be reckoned among the nations. %%% Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba, Ne ku nsozi okumulengera: Laba, be bantu ababeera bokka, So tebalibalibwa mu mawanga. 04NUM023.010 Who can count the dust of Jacob, and the number of the fourth part of Israel? Let me die the death of the righteous, and let my last end be like his! %%% Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, Oba okubala ekitundu eky'okuna ekya Isiraeri? Nfe ng'omutuukirivu bw'afa, N’enkomerero yange ey'oluvannyuma ebe ng'eyiye! 04NUM023.011 And Balak said unto Balaam, What hast thou done unto me? I took thee to curse mine enemies, and, behold, thou hast blessed them altogether. %%% Balaki n'agamba Balamu nti Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa. 04NUM023.012 And he answered and said, Must I not take heed to speak that which the LORD hath put in my mouth? %%% N'addamu n'agamba nti Tekiŋŋwanira kwekuuma kwogera ekyo Mukama kyateeka kamwa kange? 04NUM023.013 And Balak said unto him, Come, I pray thee, with me unto another place, from whence thou mayest see them: thou shalt see but the utmost part of them, and shalt not see them all: and curse me them from thence. %%% Balaki n'amugamba nti Jjangu nange, nkwegayiridde, mu kifo ekirala, w’oyinza okuyima okubalengera; onoolaba ekitundu kyabwe eky’enkomerero kyokka, n'otolaba bonna: n’oyima awo okubakolimira. 04NUM023.014 And he brought him into the field of Zophim, to the top of Pisgah, and built seven altars, and offered a bullock and a ram on every altar. %%% N'amutwala mu ttale lya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n'azimba ebyoto musanvu, n’aweerayo ente n'endiga ennune ku buli Kyoto. 04NUM023.015 And he said unto Balak, Stand here by thy burnt offering, while I meet the LORD yonder. %%% N'agamba Balaki nti Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze nga bwe nnaasisinkana ne Mukama eyo. 04NUM023.016 And the LORD met Balaam, and put a word in his mouth, and said, Go again unto Balak, and say thus. %%% Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'ateeka ekigambo mu kamwa ke, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'onooyogera bw'otyo. 04NUM023.017 And when he came to him, behold, he stood by his burnt offering, and the princes of Moab with him. And Balak said unto him, What hath the LORD spoken? %%% N'ajja gy'ali, era, laba, yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, n'abakulu ba Mowaabu wamu naye. Balaki n'amugamba nti Mukama ayogedde ki? 04NUM023.018 And he took up his parable, and said, Rise up, Balak, and hear; hearken unto me, thou son of Zippor: %%% N'agera olugero lwe n'ayogera nti Golokoka, Balaki, owulire; Ntegera okutu, ggwe mutabani wa Zipoli: 04NUM023.019 God is not a man, that he should lie; neither the son of man, that he should repent: hath he said, and shall he not do it? or hath he spoken, and shall he not make it good? %%% Katonda si muntu, okulimba; So si mwana wa muntu, okwejjusa: Ayogedde, n'okukola talikikola? Oba agambye, n'okutuusa talikituusa? 04NUM023.020 Behold, I have received commandment to bless: and he hath blessed; and I cannot reverse it. %%% Laba, ndagiddwa okuwa omukisa: Naye awadde omukisa, nange siyinza kugujjulula. 04NUM023.021 He hath not beheld iniquity in Jacob, neither hath he seen perverseness in Israel: the LORD his God is with him, and the shout of a king is among them. %%% Talabye butali butuukirivu ku Yakobo, So talabye bubambaavu ku Isiraeri: Mukama Katonda we ali naye, N'okwogerera waggulu okwa kabaka kuli mu bo. 04NUM023.022 God brought them out of Egypt; he hath as it were the strength of an unicorn. %%% Katonda abaggya mu Misiri; Alina amaanyi ng'ag'embogo. 04NUM023.023 Surely there is no enchantment against Jacob, neither is there any divination against Israel: according to this time it shall be said of Jacob and of Israel, What hath God wrought! %%% Mazima tewali ddogo awali Yakobo, So tewali bulaguzi awali Isiraeri: Kaakano kinaayogerwanga ku Yakobo ne ku Isiraeri, Nti Katonda ng'akoze! 04NUM023.024 Behold, the people shall rise up as a great lion, and lift up himself as a young lion: he shall not lie down until he eat of the prey, and drink the blood of the slain. %%% Laba, abantu bagolokoka ng'empologoma enkazi, Era beeyimusa ng'empologoma ennume: Taagalamire okutuusa lw'anaalya ku muyiggo, N'anywa omusaayi gw'abo abattiddwa. 04NUM023.025 And Balak said unto Balaam, Neither curse them at all, nor bless them at all. %%% Awo Balaki n'agamba Balamu nti Tobakolimiranga n'akatono, so n'omukisa tobasabiranga mukisa n'akatono. 04NUM023.026 But Balaam answered and said unto Balak, Told not I thee, saying, All that the LORD speaketh, that I must do? %%% Naye Balamu n'addamu n'agamba Balaki nti Saakubuulira nti Byonna Mukama by'ayogera, ebyo kiŋŋwanira okubikola? 04NUM023.027 And Balak said unto Balaam, Come, I pray thee, I will bring thee unto another place; peradventure it will please God that thou mayest curse me them from thence. %%% Balaki n'agamba Balamu nti Jjangu nno, naakutwala awalala; mpozzi Katonda anaasiima ggwe okuyima eyo okubankolimirira. 04NUM023.028 And Balak brought Balaam unto the top of Peor, that looketh toward Jeshimon. %%% Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku ntikko ya Peoli, kw'oyima okulengera eddungu. 04NUM023.029 And Balaam said unto Balak, Build me here seven altars, and prepare me here seven bullocks and seven rams. %%% Balamu n'agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu. 04NUM023.030 And Balak did as Balaam had said, and offered a bullock and a ram on every altar. %%% Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera, n’aweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume. 04NUM024.001 And when Balaam saw that it pleased the LORD to bless Israel, he went not, as at other times, to seek for enchantments, but he set his face toward the wilderness. %%% Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, ng'olulala, okunoonya eddogo, naye n'ayolekeza amaaso ge olukoola. 04NUM024.002 And Balaam lifted up his eyes, and he saw Israel abiding in his tents according to their tribes; and the spirit of God came upon him. %%% Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe byali; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako. 04NUM024.003 And he took up his parable, and said, Balaam the son of Beor hath said, and the man whose eyes are open hath said: %%% N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera: 04NUM024.004 He hath said, which heard the words of God, which saw the vision of the Almighty, falling into a trance, but having his eyes open: %%% Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n’amaaso ge nga gatunula: 04NUM024.005 How goodly are thy tents, O Jacob, and thy tabernacles, O Israel! %%% Nti Eweema zo nga nnungi, ggwe Yakobo, Ennyumba zo, ggwe Isiraeri! 04NUM024.006 As the valleys are they spread forth, as gardens by the river's side, as the trees of lign aloes which the LORD hath planted, and as cedar trees beside the waters. %%% Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu, Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga, Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba, Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi. 04NUM024.007 He shall pour the water out of his buckets, and his seed shall be in many waters, and his king shall be higher than Agag, and his kingdom shall be exalted. %%% Amazzi ganaakulukutanga okuva mu nsuwa ze. N'ensigo ze zinaabanga awali amazzi amangi, Ne kabaka we anaasinganga Agagi obugulumivu, N'obwakabaka bwe bunaagulumizibwanga. 04NUM024.008 God brought him forth out of Egypt; he hath as it were the strength of an unicorn: he shall eat up the nations his enemies, and shall break their bones, and pierce them through with his arrows. %%% Katonda amuggya mu Misiri; Alina amaanyi ng'ag'embogo. Aliriira ddala amawanga abalabe be, Era alimenyamenya amagumba gaabwe, N'abakuba okubafumita n'obusaale bwe. 04NUM024.009 He couched, he lay down as a lion, and as a great lion: who shall stir him up? Blessed is he that blesseth thee, and cursed is he that curseth thee. %%% Yabwama, yagalamira ng'empologoma ennume, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamusaggula? Aweebwenga omukisa buli anaakusabiranga omukisa, Era akolimirwenga buli anaakukolimiranga. 04NUM024.010 And Balak's anger was kindled against Balaam, and he smote his hands together: and Balak said unto Balaam, I called thee to curse mine enemies, and, behold, thou hast altogether blessed them these three times. %%% Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo: Balaki n'agamba Balamu nti Nakuyita okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule. 04NUM024.011 Therefore now flee thou to thy place: I thought to promote thee unto great honour; but, lo, the LORD hath kept thee back from honour. %%% Kale nno dduka oddeyo ewuwo: mbadde njagala okukukuza obeere n'ekitiibwa kingi nnyo; naye, laba, Mukama akuziyizizza okuba n'ekitiibwa. 04NUM024.012 And Balaam said unto Balak, Spake I not also to thy messengers which thou sentest unto me, saying, %%% Balamu n'agamba Balaki nti Era saagamba n'ababaka bo be wantumira 04NUM024.013 If Balak would give me his house full of silver and gold, I cannot go beyond the commandment of the LORD, to do either good or bad of mine own mind; but what the LORD saith, that will I speak? %%% nti Balaki bw'alyagala okumpa ennyumba ye ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nnyima mu magezi gange nze; Mukama ky'anaayogera nange kye nnaayogera? 04NUM024.014 And now, behold, I go unto my people: come therefore, and I will advertise thee what this people shall do to thy people in the latter days. %%% Era kaakano, laba, ŋŋenda eri abantu bange: jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola abantu bo mu nnaku ez'oluvannyuma. 04NUM024.015 And he took up his parable, and said, Balaam the son of Beor hath said, and the man whose eyes are open hath said: %%% N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu mutabani wa Byoli ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera: 04NUM024.016 He hath said, which heard the words of God, and knew the knowledge of the most High, which saw the vision of the Almighty, falling into a trance, but having his eyes open: %%% Oyo ayogera awulira ebigambo bya Katonda. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula: 04NUM024.017 I shall see him, but not now: I shall behold him, but not nigh: there shall come a Star out of Jacob, and a Sceptre shall rise out of Israel, and shall smite the corners of Moab, and destroy all the children of Sheth. %%% Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Muliva emmunyeenye mu Yakobo, N'omuggo ogw'obwakabaka guliyimuka mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulimenyera ddala abaana bonna ab'oluyoogaano. 04NUM024.018 And Edom shall be a possession, Seir also shall be a possession for his enemies; and Israel shall do valiantly. %%% Kale Edomu aliba butaka, Era ne Seyiri aliba butaka, abaali abalabe be; Isiraeri ng'akola eby'obuzira. 04NUM024.019 Out of Jacob shall come he that shall have dominion, and shall destroy him that remaineth of the city. %%% Era muliva mu Yakobo omu aliba n'okufuga, Alizikiriza abalifikkawo mu kibuga. 04NUM024.020 And when he looked on Amalek, he took up his parable, and said, Amalek was the first of the nations; but his latter end shall be that he perish for ever. %%% N'atunuulira Amaleki, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Amaleki yali wa lubereberye mu mawanga; Naye enkomerero ye ey'oluvannyuma erituuka mu kuzikirira. 04NUM024.021 And he looked on the Kenites, and took up his parable, and said, Strong is thy dwellingplace, and thou puttest thy nest in a rock. %%% N'atunuulira Omukeeni, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Ekifo kyo eky'okutuulamu kya maanyi, N'ekisu kyo kyateekebwa ku lwazi. 04NUM024.022 Nevertheless the Kenite shall be wasted, until Asshur shall carry thee away captive. %%% Naye Kayini alinyagibwa, Okutuusa Asuli lw'alikutwala mu busibe. 04NUM024.023 And he took up his parable, and said, Alas, who shall live when God doeth this! %%% N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Zitusanze, ani aliba omulamu Katonda bw'alikola kino? 04NUM024.024 And ships shall come from the coast of Chittim, and shall afflict Asshur, and shall afflict Eber, and he also shall perish for ever. %%% Naye ebyombo biriva ku ttale ly'e Kittimu, Biribonereza Asuli, biribonereza ne Eberi, Era naye alituuka mu kuzikirira. 04NUM024.025 And Balaam rose up, and went and returned to his place: and Balak also went his way. %%% Balamu n'agolokoka, n'agenda n'addayo mu kifo kye: ne Balaki n'addayo. 04NUM025.001 And Israel abode in Shittim, and the people began to commit whoredom with the daughters of Moab. %%% Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu: 04NUM025.002 And they called the people unto the sacrifices of their gods: and the people did eat, and bowed down to their gods. %%% kubanga baayitanga abantu okujja ku ssaddaaka za bakatonda baabwe; abantu ne balya ne bavuunamira bakatonda baabwe. 04NUM025.003 And Israel joined himself unto Baalpeor: and the anger of the LORD was kindled against Israel. %%% Isiiaeri ne yeegatta ne Baalipyoli: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri. 04NUM025.004 And the LORD said unto Moses, Take all the heads of the people, and hang them up before the LORD against the sun, that the fierce anger of the LORD may be turned away from Israel. %%% Mukama n'agamba Musa nti Twala abakulu b'abantu bonna, obawanikire Mukama mu maaso g'enjuba ekiruyi kya Mukama kikyuke kive ku Isiraeri. 04NUM025.005 And Moses said unto the judges of Israel, Slay ye every one his men that were joined unto Baalpeor. %%% Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti Mutte buli muntu abasajja be abeegasse ne Baalipyoli. 04NUM025.006 And, behold, one of the children of Israel came and brought unto his brethren a Midianitish woman in the sight of Moses, and in the sight of all the congregation of the children of Israel, who were weeping before the door of the tabernacle of the congregation. %%% Era, laba, omu ku baana ba Isiraeri n'ajja n’aleetera baganda be omukazi Omumidiyaani mu maaso ga Musa ne mu maaso g'ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri, bwe baali nga bakaabira amaziga ku mulyango gw’eweema ey'okusisinkanirangamu. 04NUM025.007 And when Phinehas, the son of Eleazar, the son of Aaron the priest, saw it, he rose up from among the congregation, and took a javelin in his hand; %%% Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, n'agolokoka wakati mu kibiina, n'addira effumu mu mukono gwe; 04NUM025.008 And he went after the man of Israel into the tent, and thrust both of them through, the man of Israel, and the woman through her belly. So the plague was stayed from the children of Israel. %%% n'agoberera omusajja Omuisiraeri mu kayumba, n'abafumitira ddala bombi, omusajja Omuisiraeri n'omukazi mu lubuto lwe. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri. 04NUM025.009 And those that died in the plague were twenty and four thousand. %%% N'abo abaafa kawumpuli baali obukumi bubiri mu enkumi nnya. 04NUM025.010 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM025.011 Phinehas, the son of Eleazar, the son of Aaron the priest, hath turned my wrath away from the children of Israel, while he was zealous for my sake among them, that I consumed not the children of Israel in my jealousy. %%% Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooai kabona akyusizza obusungu bwange okuva ku baana ba Isiraeri, kubanga akwatiddwa obuggya bwange mu bo, n'okuzikiriza ne sizikiriza baana ba Isiraeri mu buggya bwange. 04NUM025.012 Wherefore say, Behold, I give unto him my covenant of peace: %%% Kyonoova ogamba nti Laba, mmuwa endagaano yange ey'emirembe: 04NUM025.013 And he shall have it, and his seed after him, even the covenant of an everlasting priesthood; because he was zealous for his God, and made an atonement for the children of Israel. %%% era eneebanga gy'ali, n'eri ezzadde lye erinaamuddiriranga, endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo; kubanga yakwatibwa obuggya olwa Katonda we, n'atangirira abaana ba Isiraeri. 04NUM025.014 Now the name of the Israelite that was slain, even that was slain with the Midianitish woman, was Zimri, the son of Salu, a prince of a chief house among the Simeonites. %%% Era omusajja Omuisiraeri eyattibwa, eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe mu Basimyoni. 04NUM025.015 And the name of the Midianitish woman that was slain was Cozbi, the daughter of Zur; he was head over a people, and of a chief house in Midian. %%% N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye Kozebi muwala wa Zuuli; oyo yali mutwe gw'abantu ab'omu nnyumba ya bakitaabwe mu Midiyaani. 04NUM025.016 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM025.017 Vex the Midianites, and smite them: %%% Beeraliikirize Abamidiyaani obatte: 04NUM025.018 For they vex you with their wiles, wherewith they have beguiled you in the matter of Peor, and in the matter of Cozbi, the daughter of a prince of Midian, their sister, which was slain in the day of the plague for Peor's sake. %%% kubanga babeeraliikiriza n'enkwe zaabwe, ze baasala ne babasendasenda mu bigambo bya Pyoli ne mu bigambo bya Kozebi, muwala w'omukulu wa Midiyaani, mwannyinaabwe, eyattibwa ku lunaku olwa kawumpuli olw'ebigambo bya Pyoli. 04NUM026.001 And it came to pass after the plague, that the LORD spake unto Moses and unto Eleazar the son of Aaron the priest, saying, %%% Awo olwatuuka kawumpuli ng'awedde, Mukama n'agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti 04NUM026.002 Take the sum of all the congregation of the children of Israel, from twenty years old and upward, throughout their fathers' house, all that are able to go to war in Israel. %%% Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri. 04NUM026.003 And Moses and Eleazar the priest spake with them in the plains of Moab by Jordan near Jericho, saying, %%% Musa ne Eriyazaali kabona ne babagambira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti 04NUM026.004 Take the sum of the people, from twenty years old and upward; as the LORD commanded Moses and the children of Israel, which went forth out of the land of Egypt. %%% Mubale omuwendo gw'abantu, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo; nga Mukama bwe yalagira Musa n'abaana ba Isiraeri, abaava mu nsi y'e Misiri. 04NUM026.005 Reuben, the eldest son of Israel: the children of Reuben; Hanoch, of whom cometh the family of the Hanochites: of Pallu, the family of the Palluites: %%% Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: batabani ba Lewubeeai; okuva ku Kanoki, enda ey'Abakanoki: okuva ku Palu, enda eya Abapalu: 04NUM026.006 Of Hezron, the family of the Hezronites: of Carmi, the family of the Carmites. %%% okuva ku Kezulooni, enda eya Bakezulooni: okuva ku Kalumi, enda eya Bakalumi. 04NUM026.007 These are the families of the Reubenites: and they that were numbered of them were forty and three thousand and seven hundred and thirty. %%% Ezo ze nda eza Balewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu. 04NUM026.008 And the sons of Pallu; Eliab. %%% Ne batabani ba Palu; Eriyaabu. 04NUM026.009 And the sons of Eliab; Nemuel, and Dathan, and Abiram. This is that Dathan and Abiram, which were famous in the congregation, who strove against Moses and against Aaron in the company of Korah, when they strove against the LORD: %%% Ne batabani ba Eriyaabu; Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Abo be Dasani ne Abiraamu abo, abaalondebwa ekibiina, abaawakana ne Musa ne Alooni mu kibiina kya Koola, bwe baawakana ne Mukama: 04NUM026.010 And the earth opened her mouth, and swallowed them up together with Korah, when that company died, what time the fire devoured two hundred and fifty men: and they became a sign. %%% ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira wamu ne Koola, ekibiina ekyo bwe kyafa; mu biro ebyo omuliro bwe gwayokya abasajja ebikumi bibiri mu ataano, ne bafuuka kabonero. 04NUM026.011 Notwithstanding the children of Korah died not. %%% Naye batabani ba Koola tebaafa. 04NUM026.012 The sons of Simeon after their families: of Nemuel, the family of the Nemuelites: of Jamin, the family of the Jaminites: of Jachin, the family of the Jachinites: %%% Batabani ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Nemweri, enda eya Banemweri: okuva ku Yamini, enda eya Bayamini: okuva ku Yakini, enda eya Bayakini: 04NUM026.013 Of Zerah, the family of the Zarhites: of Shaul, the family of the Shaulites. %%% okuva ku Zeera, enda eya Bazeera: okuva ku Sawuli, enda eya Basawuli. 04NUM026.014 These are the families of the Simeonites, twenty and two thousand and two hundred. %%% Ezo ze nda eza Basimyoni, obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu bibiri. 04NUM026.015 The children of Gad after their families: of Zephon, the family of the Zephonites: of Haggi, the family of the Haggites: of Shuni, the family of the Shunites: %%% Batabani ba Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Zefoni, enda eya Bazefoni: okuva ku Kagi, enda eya Bakagi: okuva ku Suni, enda eya Basuni: 04NUM026.016 Of Ozni, the family of the Oznites: of Eri, the family of the Erites: %%% okuva ku Ozeni, enda eya Baozeni: okuva ku Eri, enda eya Baeri: 04NUM026.017 Of Arod, the family of the Arodites: of Areli, the family of the Arelites. %%% okuva ku Alodi, enda eya Baalodi: okuva ku Aleri, enda eya Baaleri: 04NUM026.018 These are the families of the children of Gad according to those that were numbered of them, forty thousand and five hundred. %%% ezo ze nda eza batabani ba Gaadi ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi buna mu bitaano. 04NUM026.019 The sons of Judah were Er and Onan: and Er and Onan died in the land of Canaan. %%% Batabani ba Yuda, Eri ne Onani: Eri ne Onani ne bafiira mu nsi ya Kanani. 04NUM026.020 And the sons of Judah after their families were; of Shelah, the family of the Shelanites: of Pharez, the family of the Pharzites: of Zerah, the family of the Zarhites. %%% Ne batabani ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali bano; okuva ku Seera, enda eya Baseera: okuva ku Pereezi, enda eya Bapereezi: okuva ku Zeera, enda eya Bazeera. 04NUM026.021 And the sons of Pharez were; of Hezron, the family of the Hezronites: of Hamul, the family of the Hamulites. %%% Ne batabani ba Pereezi bano; okuva ku Kezulooni, enda eya Bakezulooni okuva ku Kamuli, enda eya Bakamuli. 04NUM026.022 These are the families of Judah according to those that were numbered of them, threescore and sixteen thousand and five hundred. %%% Ezo ze nda za Yuda ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi musanvu mu kakaaga mu bitaano. 04NUM026.023 Of the sons of Issachar after their families: of Tola, the family of the Tolaites: of Pua, the family of the Punites: %%% Batabani ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Tola, enda eya Batola: okuva ku Puva, enda eya Bapuva: 04NUM026.024 Of Jashub, the family of the Jashubites: of Shimron, the family of the Shimronites. %%% okuva ku Yasubu, enda eya Bayasubu: okuva ku Simuloni, enda eya Basimuloni. 04NUM026.025 These are the families of Issachar according to those that were numbered of them, threescore and four thousand and three hundred. %%% Ezo ze nda za Isakaali ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu. 04NUM026.026 Of the sons of Zebulun after their families: of Sered, the family of the Sardites: of Elon, the family of the Elonites: of Jahleel, the family of the Jahleelites. %%% Batabani ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Seredi, enda eya Baseredi: okuva ku Eroni, enda eya Baeroni: okuva ku Yaleeri, enda eya Bayaleeri. 04NUM026.027 These are the families of the Zebulunites according to those that were numbered of them, threescore thousand and five hundred. %%% Ezo ze nda eza Bazebbulooni ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu bitaano. 04NUM026.028 The sons of Joseph after their families were Manasseh and Ephraim. %%% Batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali: Manase ne Efulayimu 04NUM026.029 Of the sons of Manasseh: of Machir, the family of the Machirites: and Machir begat Gilead: of Gilead come the family of the Gileadites. %%% Batabani ba Manase: okuva ku Makiri, enda eya Bamakiri: Makiri n'azaala Gireyaadi: okuva ku Gireyasdi, enda eya Bagireyaadi. 04NUM026.030 These are the sons of Gilead: of Jeezer, the family of the Jeezerites: of Helek, the family of the Helekites: %%% Bano be batabani ba Gireyaadi: okuva ku Yezeeri, enda eya Bayezeeri: okuva ku Kereki, enda eya Bakereki: 04NUM026.031 And of Asriel, the family of the Asrielites: and of Shechem, the family of the Shechemites: %%% n'okuva ku Asuliyeri, enda eya Basuliyeri: n'okuva ku Sekemu, enda eya Basekemu: 04NUM026.032 And of Shemida, the family of the Shemidaites: and of Hepher, the family of the Hepherites. %%% n'okuva ku Semida, enda eya Basemida: n'okuva ku Keferi, enda eya Bakeferi. 04NUM026.033 And Zelophehad the son of Hepher had no sons, but daughters: and the names of the daughters of Zelophehad were Mahlah, and Noah, Hoglah, Milcah, and Tirzah. %%% Ne Zerofekadi mutabani wa Keferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala: ne bawala ba Zerofekadi amannya gaabwe Maala ne Toowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza. 04NUM026.034 These are the families of Manasseh, and those that were numbered of them, fifty and two thousand and seven hundred. %%% Ezo ze nda za Manase: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu enkumi bbiri mu lusanvu. 04NUM026.035 These are the sons of Ephraim after their families: of Shuthelah, the family of the Shuthalhites: of Becher, the family of the Bachrites: of Tahan, the family of the Tahanites. %%% Bano be batabani ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Susera, enda eya Basusera: okuva ku Bekeri, enda eya Babekeri: okuva ku Takani, enda eya Batakani. 04NUM026.036 And these are the sons of Shuthelah: of Eran, the family of the Eranites. %%% Ne bano be batabani ba Susera: okuva ku Erani, enda eya Baerani. 04NUM026.037 These are the families of the sons of Ephraim according to those that were numbered of them, thirty and two thousand and five hundred. These are the sons of Joseph after their families. %%% Ezo ze nda za batabani ba Efulayimu ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali. 04NUM026.038 The sons of Benjamin after their families: of Bela, the family of the Belaites: of Ashbel, the family of the Ashbelites: of Ahiram, the family of the Ahiramites: %%% Batabani ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Bera, enda eya Babera: okuva ku Asuberi, enda eya Basuberi: okuva ku Akiramu, enda eya Bakiramu: 04NUM026.039 Of Shupham, the family of the Shuphamites: of Hupham, the family of the Huphamites. %%% okuva ku Sufamu, enda eya Basufamu: okuva ku Kufamu, enda eya Bakufamu. 04NUM026.040 And the sons of Bela were Ard and Naaman: of Ard, the family of the Ardites: and of Naaman, the family of the Naamites. %%% Ne batabani ba Bera baali Aluda ne Naamani: okuva ku Aluda, enda eya Baluda: okuva ku Naamani, enda eya Banaamani. 04NUM026.041 These are the sons of Benjamin after their families: and they that were numbered of them were forty and five thousand and six hundred. %%% Abo be batabani ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga. 04NUM026.042 These are the sons of Dan after their families: of Shuham, the family of the Shuhamites. These are the families of Dan after their families. %%% Bano be batabani ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Sukamu, enda eya Basukamu. Ezo ze nda za Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali. 04NUM026.043 All the families of the Shuhamites, according to those that were numbered of them, were threescore and four thousand and four hundred. %%% Enda zonna eza Basukamu, ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, baali obukumi mukaaga mu enkumi nnya mu bina. 04NUM026.044 Of the children of Asher after their families: of Jimna, the family of the Jimnites: of Jesui, the family of the Jesuites: of Beriah, the family of the Beriites. %%% Batabani ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Imuna, enda eya Baimuna: okuva ku Isuvi, enda eya Baisuvi: okuva ku Beriya, enda eya Baberiya. 04NUM026.045 Of the sons of Beriah: of Heber, the family of the Heberites: of Malchiel, the family of the Malchielites. %%% Okuva ku batabani ba Beriya: okuva ku Keberi, enda eya Bakeberi: okuva ku Malukiyeeri, enda eya Bamalukiyeeri. 04NUM026.046 And the name of the daughter of Asher was Sarah. %%% Ne muwala wa Aseri erinnya lye Seera. 04NUM026.047 These are the families of the sons of Asher according to those that were numbered of them; who were fifty and three thousand and four hundred. %%% Ezo ze nda eza batabani ba Aseri ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina. 04NUM026.048 Of the sons of Naphtali after their families: of Jahzeel, the family of the Jahzeelites: of Guni, the family of the Gunites: %%% Batabani ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Yazeeri, enda eya Bayazeeri: okuva ku Guni, enda eya Baguni: 04NUM026.049 Of Jezer, the family of the Jezerites: of Shillem, the family of the Shillemites. %%% okuva ku Yezeeri, enda eya Bayezeeri: okuva ku Siremu, enda eya Basiremu. 04NUM026.050 These are the families of Naphtali according to their families: and they that were numbered of them were forty and five thousand and four hundred. %%% Ezo ze nda za Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu bina. 04NUM026.051 These were the numbered of the children of Israel, six hundred thousand and a thousand seven hundred and thirty. %%% Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri, obusiriivu mukaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu. 04NUM026.052 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM026.053 Unto these the land shall be divided for an inheritance according to the number of names. %%% nti Abo be baligabirwa ensi okuba obusika ng'omuwendo gw'amannya bwe guli. 04NUM026.054 To many thou shalt give the more inheritance, and to few thou shalt give the less inheritance: to every one shall his inheritance be given according to those that were numbered of him. %%% Abayinga obungi olibawa obusika okusukkiriza, n’abatono olibawa obusika okukendeezaako: buli muntu ng'abo abaabalibwa ku ye bwe baali, bw'aliweebwa bw'atyo obusika bwe. 04NUM026.055 Notwithstanding the land shall be divided by lot: according to the names of the tribes of their fathers they shall inherit. %%% Era naye ensi erigabibwa na bululu: ng'amannya g'ebika bya bakitaabwe bwe gali bwe balisika. 04NUM026.056 According to the lot shall the possession thereof be divided between many and few. %%% Ng'obululu bwe buliba obusika bwabwe bwe buligabirwa abo abayinga obungi n'abatono. 04NUM026.057 And these are they that were numbered of the Levites after their families: of Gershon, the family of the Gershonites: of Kohath, the family of the Kohathites: of Merari, the family of the Merarites. %%% Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Gerusoni, enda eya Bagerusoni: okuva ku Kokasi, enda eya Bakokasi: okuva ku Merali, enda eya Bamerali. 04NUM026.058 These are the families of the Levites: the family of the Libnites, the family of the Hebronites, the family of the Mahlites, the family of the Mushites, the family of the Korathites. And Kohath begat Amram. %%% Zino ze nda za Leevi: enda eya Balibuni, enda eya Bakebbulooni, enda eya Bamakuli, enda eya Bamusi, enda eya Bakoola. Kokasi n'azaala Amulaamu. 04NUM026.059 And the name of Amram's wife was Jochebed, the daughter of Levi, whom her mother bare to Levi in Egypt: and she bare unto Amram Aaron and Moses, and Miriam their sister. %%% Ne mukazi wa Amulaamu erinnya lye Yokebedi, muwala wa Leevi, eyazaalirwa Leevi mu Misiri: n'azaalira Amulaamu Alooni ne Musa ne Miryamu mwannyinaabwe. 04NUM026.060 And unto Aaron was born Nadab, and Abihu, Eleazar, and Ithamar. %%% Alooni n'azaalirwa Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 04NUM026.061 And Nadab and Abihu died, when they offered strange fire before the LORD. %%% Nadabu ne Abiku ne bafa, bwe baawaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama. 04NUM026.062 And those that were numbered of them were twenty and three thousand, all males from a month old and upward: for they were not numbered among the children of Israel, because there was no inheritance given them among the children of Israel. %%% N'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi bubiri mu enkumi ssatu, buli musajja eyaakamala omwezi ogumu n'okukirawo: kubanga tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri, kubanga tebaaweebwa busika mu baana ba Isiraeri. 04NUM026.063 These are they that were numbered by Moses and Eleazar the priest, who numbered the children of Israel in the plains of Moab by Jordan near Jericho. %%% Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona; abaabalira abaana ba Isiraeri mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko. 04NUM026.064 But among these there was not a man of them whom Moses and Aaron the priest numbered, when they numbered the children of Israel in the wilderness of Sinai. %%% Naye mu abo temwali n'omu ku abo abaabalibwa Musa ne Alooni kabona; abaabalira abaana ba Isiraeri mu ddungu lya Sinaayi. 04NUM026.065 For the LORD had said of them, They shall surely die in the wilderness. And there was not left a man of them, save Caleb the son of Jephunneh, and Joshua the son of Nun. %%% Kubanga Mukama yali ayogedde ku bo nti Tebalirema kufiira mu ddungu. So tewaasigalawo ku bo n'omu wabula Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuni. 04NUM027.001 Then came the daughters of Zelophehad, the son of Hepher, the son of Gilead, the son of Machir, the son of Manasseh, of the families of Manasseh the son of Joseph: and these are the names of his daughters; Mahlah, Noah, and Hoglah, and Milcah, and Tirzah. %%% Awo ne wasembera bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ab'oku nda za Manase mutabani wa Yusufu: ne gano ge mannya ga bawala be; Maala, Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza. 04NUM027.002 And they stood before Moses, and before Eleazar the priest, and before the princes and all the congregation, by the door of the tabernacle of the congregation, saying, %%% Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'abakulu nekibiina kyonna, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, nga boogera nti 04NUM027.003 Our father died in the wilderness, and he was not in the company of them that gathered themselves together against the LORD in the company of Korah; but died in his own sin, and had no sons. %%% Kitaffe yafiira mu ddungu, so teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanyiza ku Mukama mu kibiina kya Koola: naye yafiira mu kibi kye ye; so teyazaala baana ba bulenzi. 04NUM027.004 Why should the name of our father be done away from among his family, because he hath no son? Give unto us therefore a possession among the brethren of our father. %%% Ekinaaba kiggisaawo ki erinnya lya kitaffe ku nda ye, kubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe. 04NUM027.005 And Moses brought their cause before the LORD. %%% Musa n'atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama. 04NUM027.006 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM027.007 The daughters of Zelophehad speak right: thou shalt surely give them a possession of an inheritance among their father's brethren; and thou shalt cause the inheritance of their father to pass unto them. %%% Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga: tolirema kubawa butaka bwa busika mu baganda ba kitaabwe; era olibasisa obusika bwa kitaabwe. 04NUM027.008 And thou shalt speak unto the children of Israel, saying, If a man die, and have no son, then ye shall cause his inheritance to pass unto his daughter. %%% Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe. 04NUM027.009 And if he have no daughter, then ye shall give his inheritance unto his brethren. %%% Era bw'anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe. 04NUM027.010 And if he have no brethren, then ye shall give his inheritance unto his father's brethren. %%% Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga baganda ba kitaawe obusika. 04NUM027.011 And if his father have no brethren, then ye shall give his inheritance unto his kinsman that is next to him of his family, and he shall possess it: and it shall be unto the children of Israel a statute of judgment, as the LORD commanded Moses. %%% Era kitaawe bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda ku nda ye, naye anaabulyanga: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri tteeka lya musango, nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM027.012 And the LORD said unto Moses, Get thee up into this mount Abarim, and see the land which I have given unto the children of Israel. %%% Awo Mukama n'agamba Musa nti Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri. 04NUM027.013 And when thou hast seen it, thou also shalt be gathered unto thy people, as Aaron thy brother was gathered. %%% Kale bw'onoomala okugirengera, naawe olikuŋŋaanyizibwa eri abantu bo, nga Alooni muganda wo bwe yakuŋŋaanyizibwa: 04NUM027.014 For ye rebelled against my commandment in the desert of Zin, in the strife of the congregation, to sanctify me at the water before their eyes: that is the water of Meribah in Kadesh in the wilderness of Zin. %%% kubanga mwajeemera ekigambo kyange mu ddungu Zini, mu kuwakana kw'ekibiina, okuntukuliza ku mazzi mu maaso gaabwe. (Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.) 04NUM027.015 And Moses spake unto the LORD, saying, %%% Musa n'agamba Mukama nti 04NUM027.016 Let the LORD, the God of the spirits of all flesh, set a man over the congregation, %%% Mukama, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, alonde omusajja okufuga ekibiina, 04NUM027.017 Which may go out before them, and which may go in before them, and which may lead them out, and which may bring them in; that the congregation of the LORD be not as sheep which have no shepherd. %%% anaafulumanga mu maaso gaabwe, era anaayingiranga mu maaso gaabwe, era anaabafulumyanga, era anaabayingizanga; ekibiina kya Mukama kireme okuba ng'endiga ezitalina musumba. 04NUM027.018 And the LORD said unto Moses, Take thee Joshua the son of Nun, a man in whom is the spirit, and lay thine hand upon him; %%% Mukama n'agamba Musa nti Twala Yoswa mutabani wa Nuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo; 04NUM027.019 And set him before Eleazar the priest, and before all the congregation; and give him a charge in their sight. %%% omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'ekibiina kyonna; omukuutirire mu maaso gaabwe. 04NUM027.020 And thou shalt put some of thine honour upon him, that all the congregation of the children of Israel may be obedient. %%% Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bawulirenga. 04NUM027.021 And he shall stand before Eleazar the priest, who shall ask counsel for him after the judgment of Urim before the LORD: at his word shall they go out, and at his word they shall come in, both he, and all the children of Israel with him, even all the congregation. %%% Era anaayimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, anaamubuulizanga olw'omusango gwa Ulimu mu maaso ga Mukama: banaafulumanga lwa kigambo kye, era banaayingiranga lwa kigambo kye, ye n'abaana ba Isiraeri bonna wamu naye, ekibiina kyonna. 04NUM027.022 And Moses did as the LORD commanded him: and he took Joshua, and set him before Eleazar the priest, and before all the congregation: %%% Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'atwala Yoswa, n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna: 04NUM027.023 And he laid his hands upon him, and gave him a charge, as the LORD commanded by the hand of Moses. %%% n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yayogera n'omukono gwa Musa. 04NUM028.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM028.002 Command the children of Israel, and say unto them, My offering, and my bread for my sacrifices made by fire, for a sweet savour unto me, shall ye observe to offer unto me in their due season. %%% Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Ekirabo kyange, ebyange eby'okulya olw'ebyange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro, eby'evvumbe eddungi gye ndi, munaakwatanga okubiwaayo gye ndi mu ntuuko zaabyo. 04NUM028.003 And thou shalt say unto them, This is the offering made by fire which ye shall offer unto the LORD; two lambs of the first year without spot day by day, for a continual burnt offering. %%% Era onoobagamba nti Kino kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama; abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo. 04NUM028.004 The one lamb shalt thou offer in the morning, and the other lamb shalt thou offer at even; %%% Omwana gw'endiga ogumu onoowangayo enkya, n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo akawungeezi; 04NUM028.005 And a tenth part of an ephah of flour for a meat offering, mingled with the fourth part of an hin of beaten oil. %%% n'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, ekitabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya ini ey'amafuta amakube. 04NUM028.006 It is a continual burnt offering, which was ordained in mount Sinai for a sweet savour, a sacrifice made by fire unto the LORD. %%% Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 04NUM028.007 And the drink offering thereof shall be the fourth part of an hin for the one lamb: in the holy place shalt thou cause the strong wine to be poured unto the LORD for a drink offering. %%% N'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako kinaabanga kitundu kya kuna kya ini olw'omwana gw'endiga ogumu: mu watukuvu mw'onoofukiranga ekiweebwayo eky'okunywa ekika eri Mukama. 04NUM028.008 And the other lamb shalt thou offer at even: as the meat offering of the morning, and as the drink offering thereof, thou shalt offer it, a sacrifice made by fire, of a sweet savour unto the LORD. %%% N'omwana gw'endiga ogw'okubiri onoowangayo akawungeezi: ng'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako bwe biri, bw'onoogiwangayo bw'otyo, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 04NUM028.009 And on the sabbath day two lambs of the first year without spot, and two tenth deals of flour for a meat offering, mingled with oil, and the drink offering thereof: %%% Ne ku ssabbiiti abaana b'endiga babiri abalume abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako: 04NUM028.010 This is the burnt offering of every sabbath, beside the continual burnt offering, and his drink offering. %%% ekyo kye kiweebwayo ekya buli ssabbiiti, obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM028.011 And in the beginnings of your months ye shall offer a burnt offering unto the LORD; two young bullocks, and one ram, seven lambs of the first year without spot; %%% Era emyezi gyammwe we ginaasookeranga munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema; 04NUM028.012 And three tenth deals of flour for a meat offering, mingled with oil, for one bullock; and two tenth deals of flour for a meat offering, mingled with oil, for one ram; %%% n'ebitundu eby'ekkumi bisatu ebya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, olwa buli nte; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta olw'endiga emu; 04NUM028.013 And a several tenth deal of flour mingled with oil for a meat offering unto one lamb; for a burnt offering of a sweet savour, a sacrifice made by fire unto the LORD. %%% n'ekitundu ekirala eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta olwa buli mwana gw'endiga; okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 04NUM028.014 And their drink offerings shall be half an hin of wine unto a bullock, and the third part of an hin unto a ram, and a fourth part of an hin unto a lamb: this is the burnt offering of every month throughout the months of the year. %%% N'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako binaabanga kitundu kya ini ey'envinnyo olw'ente, n'ekitundu eky'okusatu eky'ekibya olw'endiga ennume, n'ekitundu eky'okuna ekya ini olw'omwana gw'endiga: ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi okumalako emyezi egy'omwaka. 04NUM028.015 And one kid of the goats for a sin offering unto the LORD shall be offered, beside the continual burnt offering, and his drink offering. %%% N'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi eri Mukama; eneeweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM028.016 And in the fourteenth day of the first month is the passover of the LORD. %%% Era mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ennya, wanaabangawo Okuyitako kwa Mukama. 04NUM028.017 And in the fifteenth day of this month is the feast: seven days shall unleavened bread be eaten. %%% Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo wanaabangawo embaga: emigaati egitazimbulukuswa ginaaliirwanga ennaku musanvu. 04NUM028.018 In the first day shall be an holy convocation; ye shall do no manner of servile work therein: %%% Ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: 04NUM028.019 But ye shall offer a sacrifice made by fire for a burnt offering unto the LORD; two young bullocks, and one ram, and seven lambs of the first year: they shall be unto you without blemish: %%% naye munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama; ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, n'abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu: banaabanga gye muli abataliiko bulema: 04NUM028.020 And their meat offering shall be of flour mingled with oil: three tenth deals shall ye offer for a bullock, and two tenth deals for a ram; %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta: munaawangayo ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; 04NUM028.021 A several tenth deal shalt thou offer for every lamb, throughout the seven lambs: %%% onoowangayo ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu; 04NUM028.022 And one goat for a sin offering, to make an atonement for you. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira. 04NUM028.023 Ye shall offer these beside the burnt offering in the morning, which is for a continual burnt offering. %%% Munaawangayo ebyo era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya, ekinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo. 04NUM028.024 After this manner ye shall offer daily, throughout the seven days, the meat of the sacrifice made by fire, of a sweet savour unto the LORD: it shall be offered beside the continual burnt offering, and his drink offering. %%% Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, eky'okulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: kinaaweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM028.025 And on the seventh day ye shall have an holy convocation; ye shall do no servile work. %%% Ne ku lunaku olw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono. 04NUM028.026 Also in the day of the firstfruits, when ye bring a new meat offering unto the LORD, after your weeks be out, ye shall have an holy convocation; ye shall do no servile work: %%% Era ne ku lunaku olw'ebibala ebibereberye, bwe munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama mu mbaga yammwe eya ssabbiiti, kale munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: 04NUM028.027 But ye shall offer the burnt offering for a sweet savour unto the LORD; two young bullocks, one ram, seven lambs of the first year; %%% naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; 04NUM028.028 And their meat offering of flour mingled with oil, three tenth deals unto one bullock, two tenth deals unto one ram, %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu, 04NUM028.029 A several tenth deal unto one lamb, throughout the seven lambs; %%% ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu; 04NUM028.030 And one kid of the goats, to make an atonement for you. %%% embuzi ennume emu okubatangirira. 04NUM028.031 Ye shall offer them beside the continual burnt offering, and his meat offering, (they shall be unto you without blemish) and their drink offerings. %%% Obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako, munaawangayo n'ebyo (binaabanga gye muli ebitaliiko bulema), n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako. 04NUM029.001 And in the seventh month, on the first day of the month, ye shall have an holy convocation; ye shall do no servile work: it is a day of blowing the trumpets unto you. %%% Ne mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lwe lunaku olw'okufuuyirako amakondeere gye muli. 04NUM029.002 And ye shall offer a burnt offering for a sweet savour unto the LORD; one young bullock, one ram, and seven lambs of the first year without blemish: %%% Era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume omusanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 04NUM029.003 And their meat offering shall be of flour mingled with oil, three tenth deals for a bullock, and two tenth deals for a ram, %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume, 04NUM029.004 And one tenth deal for one lamb, throughout the seven lambs: %%% n'ekitundu eky'ekkumi kimu olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu: 04NUM029.005 And one kid of the goats for a sin offering, to make an atonement for you: %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira: 04NUM029.006 Beside the burnt offering of the month, and his meat offering, and the daily burnt offering, and his meat offering, and their drink offerings, according unto their manner, for a sweet savour, a sacrifice made by fire unto the LORD. %%% obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa eky'omwezi ogwakajja guboneke, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 04NUM029.007 And ye shall have on the tenth day of this seventh month an holy convocation; and ye shall afflict your souls: ye shall not do any work therein: %%% Ne ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; era munaabonerezanga obulamu bwammwe; temukolanga mulimu gwonna: 04NUM029.008 But ye shall offer a burnt offering unto the LORD for a sweet savour; one young bullock, one ram, and seven lambs of the first year; they shall be unto you without blemish: %%% naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okuba evvumbe eddungi; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; banaabanga gye muli abataliiko bulema: 04NUM029.009 And their meat offering shall be of flour mingled with oil, three tenth deals to a bullock, and two tenth deals to one ram, %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu, 04NUM029.010 A several tenth deal for one lamb, throughout the seven lambs: %%% ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu: 04NUM029.011 One kid of the goats for a sin offering; beside the sin offering of atonement, and the continual burnt offering, and the meat offering of it, and their drink offerings. %%% embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo olw'ekibi eky'okutangirira, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako. 04NUM029.012 And on the fifteenth day of the seventh month ye shall have an holy convocation; ye shall do no servile work, and ye shall keep a feast unto the LORD seven days: %%% Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono, era munaakwatiranga embaga ennaku musanvu eri Mukama: 04NUM029.013 And ye shall offer a burnt offering, a sacrifice made by fire, of a sweet savour unto the LORD; thirteen young bullocks, two rams, and fourteen lambs of the first year; they shall be without blemish: %%% era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu; banaabanga abataliiko bulema: 04NUM029.014 And their meat offering shall be of flour mingled with oil, three tenth deals unto every bullock of the thirteen bullocks, two tenth deals to each ram of the two rams, %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte ku nte ekkumi n'essatu, ebitundu eby'ekkumi bibiri olwa buli ndiga ennume ku ndiga ennume zombi, 04NUM029.015 And a several tenth deal to each lamb of the fourteen lambs: %%% n'ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga ekkumi n'abana: 04NUM029.016 And one kid of the goats for a sin offering; beside the continual burnt offering, his meat offering, and his drink offering. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM029.017 And on the second day ye shall offer twelve young bullocks, two rams, fourteen lambs of the first year without spot: %%% Ne ku lunaku olw'okubiri munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 04NUM029.018 And their meat offering and their drink offerings for the bullocks, for the rams, and for the lambs, shall be according to their number, after the manner: %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 04NUM029.019 And one kid of the goats for a sin offering; beside the continual burnt offering, and the meat offering thereof, and their drink offerings. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako. 04NUM029.020 And on the third day eleven bullocks, two rams, fourteen lambs of the first year without blemish; %%% Ne ku lunaku olw'okusatu ente kkumi n'emu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema; 04NUM029.021 And their meat offering and their drink offerings for the bullocks, for the rams, and for the lambs, shall be according to their number, after the manner: %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuweado gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 04NUM029.022 And one goat for a sin offering; beside the continual burnt offering, and his meat offering, and his drink offering. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM029.023 And on the fourth day ten bullocks, two rams, and fourteen lambs of the first year without blemish: %%% Ne ku lunaku olw'okuna ente kkumi, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 04NUM029.024 Their meat offering and their drink offerings for the bullocks, for the rams, and for the lambs, shall be according to their number, after the manner: %%% ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 04NUM029.025 And one kid of the goats for a sin offering; beside the continual burnt offering, his meat offering, and his drink offering. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM029.026 And on the fifth day nine bullocks, two rams, and fourteen lambs of the first year without spot: %%% Ne ku lunaku olw'okutaano ente mwenda, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 04NUM029.027 And their meat offering and their drink offerings for the bullocks, for the rams, and for the lambs, shall be according to their number, after the manner: %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 04NUM029.028 And one goat for a sin offering; beside the continual burnt offering, and his meat offering, and his drink offering. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM029.029 And on the sixth day eight bullocks, two rams, and fourteen lambs of the first year without blemish: %%% Ne ku lunaku olw'omukaaga ente munaana, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 04NUM029.030 And their meat offering and their drink offerings for the bullocks, for the rams, and for the lambs, shall be according to their number, after the manner: %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga enaume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 04NUM029.031 And one goat for a sin offering; beside the continual burnt offering, his meat offering, and his drink offering. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako. 04NUM029.032 And on the seventh day seven bullocks, two rams, and fourteen lambs of the first year without blemish: %%% Ne ku lunaku olw'omusanvu ente musanvu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 04NUM029.033 And their meat offering and their drink offerings for the bullocks, for the rams, and for the lambs, shall be according to their number, after the manner: %%% n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 04NUM029.034 And one goat for a sin offering; beside the continual burnt offering, his meat offering, and his drink offering. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM029.035 On the eighth day ye shall have a solemn assembly: ye shall do no servile work therein: %%% Ku lunaku olw'omunaana munaabanga n'okukuŋŋaana okw'okwewombeeka: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: 04NUM029.036 But ye shall offer a burnt offering, a sacrifice made by fire, of a sweet savour unto the LORD: one bullock, one ram, seven lambs of the first year without blemish: %%% naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 04NUM029.037 Their meat offering and their drink offerings for the bullock, for the ram, and for the lambs, shall be according to their number, after the manner: %%% ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, binaabanga ng'omuwendo gwabyo, ng'etteeka bwe liri: 04NUM029.038 And one goat for a sin offering; beside the continual burnt offering, and his meat offering, and his drink offering. %%% n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi: obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako. 04NUM029.039 These things ye shall do unto the LORD in your set feasts, beside your vows, and your freewill offerings, for your burnt offerings, and for your meat offerings, and for your drink offerings, and for your peace offerings. %%% Ebyo bye munaawangayo eri Mukama mu mbaga zammwe ezaalagirwa, obutassaako bweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, okuba bye muwaayo ebyokebwa, ne bye muwaayo eby'obutta, ne bye muwaayo eby'okunywa, ne bye muwaayo olw'emirembe. 04NUM029.040 And Moses told the children of Israel according to all that the LORD commanded Moses. %%% Musa n’abuulira abaana ba Isiraeri nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa. 04NUM030.001 And Moses spake unto the heads of the tribes concerning the children of Israel, saying, This is the thing which the LORD hath commanded. %%% Musa n'agamba emitwe gy'ebika by'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde. 04NUM030.002 If a man vow a vow unto the LORD, or swear an oath to bind his soul with a bond; he shall not break his word, he shall do according to all that proceedeth out of his mouth. %%% Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro okulagaanya obulamu bwe n'endagaano, tavumisanga kigambo kye; anaakolanga nga byonna bwe biri ebifuluma mu kamwa ke. 04NUM030.003 If a woman also vow a vow unto the LORD, and bind herself by a bond, being in her father's house in her youth; %%% Era omukazi bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, ne yeeragaanya n'endagaano, ng'ali mu anyumba ya kitaawe, mu buto bwe; 04NUM030.004 And her father hear her vow, and her bond wherewith she hath bound her soul, and her father shall hold his peace at her: then all her vows shall stand, and every bond wherewith she hath bound her soul shall stand. %%% kitaawe n'awulira obweyamo bwe n'endagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe, kitaawe n'amusirikira: kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe eneenyweranga. 04NUM030.005 But if her father disallow her in the day that he heareth; not any of her vows, or of her bonds wherewith she hath bound her soul, shall stand: and the LORD shall forgive her, because her father disallowed her. %%% Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'awulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe newakubadde ku ndagaano ze, ze yalagaanya obulamu bwe, eneenyweranga: era Mukama anaamusonyiwanga kubanga kitaawe yamugaana. 04NUM030.006 And if she had at all an husband, when she vowed, or uttered ought out of her lips, wherewith she bound her soul; %%% Era bw'anaabanga alina bba, obweyamo bwe nga buli ku ye, oba emimwa gye bye gyogera ng'ayanguyiriza, by'alagaanyizza obulamu bwe; 04NUM030.007 And her husband heard it, and held his peace at her in the day that he heard it: then her vows shall stand, and her bonds wherewith she bound her soul shall stand. %%% bba n'awulira n'amusirikira ku lunaku lw'akiwulirirako: kale obweyamo bwe bunaanyweranga, n'endagaano z'alagaanyizza obulamu bwe zinaayweranga. 04NUM030.008 But if her husband disallowed her on the day that he heard it; then he shall make her vow which she vowed, and that which she uttered with her lips, wherewith she bound her soul, of none effect: and the LORD shall forgive her. %%% Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale anajjululanga obweyamo bwe obuli ku ye, n'emimwa gye bye gyogedde ng'ayanguyirizza, by'alagaanyizza obulamu bwe: era Mukama anaamusonyiwanga. 04NUM030.009 But every vow of a widow, and of her that is divorced, wherewith they have bound their souls, shall stand against her. %%% Naye obweyamo bwa nnamwandu oba bw'oyo eyagobebwa bba, buli kye yalagaanya obulamu bwe, kinaanyweranga ku ye. 04NUM030.010 And if she vowed in her husband's house, or bound her soul by a bond with an oath; %%% Era oba nga yeeyamira obweyamo mu nnyumba ya bba, oba yalagaanya obulamu bwe n'endagaano ng'alayira, 04NUM030.011 And her husband heard it, and held his peace at her, and disallowed her not: then all her vows shall stand, and every bond wherewith she bound her soul shall stand. %%% bba n'akiwulira n'amusirikira n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gye yalagaanya obulamu bwe eneenyweranga. 04NUM030.012 But if her husband hath utterly made them void on the day he heard them; then whatsoever proceeded out of her lips concerning her vows, or concerning the bond of her soul, shall not stand: her husband hath made them void; and the LORD shall forgive her. %%% Naye bba oba nga yabidibya ku lunaku lwe yabiwulirirako; kale buli ekyafuluma mu mimwa gye mu bigambo by'obweyamo bwe oba mu bigambo by'endagaano y'obulamu bwe tekinyweranga: bba ng'abijjuludde; era Mukama anaamusonyiwanga. 04NUM030.013 Every vow, and every binding oath to afflict the soul, her husband may establish it, or her husband may make it void. %%% Buli bweyamo na buli kirayiro eky'endagaano eky'okwebonereza obulamu bwe, bba ayinza okukinyweza, oba bba ayinza okukijjulula. 04NUM030.014 But if her husband altogether hold his peace at her from day to day; then he establisheth all her vows, or all her bonds, which are upon her: he confirmeth them, because he held his peace at her in the day that he heard them. %%% Naye bba bw'anaamusirikiriranga ddala bulijjo bulijjo; kale anaanywezanga obweyamo bwe bwonna, oba endagaano ze zonna eziri ku ye: ng'abinywezezza, kubanga yamusirikira ku lunaku lwe yabiwulirirako. 04NUM030.015 But if he shall any ways make them void after that he hath heard them; then he shall bear her iniquity. %%% Naye bw'anaabidibyanga ng'amaze okubiwulira; kale ye anaabangako obutali butuukirivu bw'omukazi. 04NUM030.016 These are the statutes, which the LORD commanded Moses, between a man and his wife, between the father and his daughter, being yet in her youth in her father's house. %%% Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, wakati wa kitaawe w'omuwala ne muwala we, ng'akyali mu buto bwe, mu nnyumba ya kitaawe. 04NUM031.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM031.002 Avenge the children of Israel of the Midianites: afterward shalt thou be gathered unto thy people. %%% Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani; oluvannyuma olyoke okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo. 04NUM031.003 And Moses spake unto the people, saying, Arm some of yourselves unto the war, and let them go against the Midianites, and avenge the LORD of Midian. %%% Musa n'agamba abantu nti Muggye mu mmwe abasajja mubawe eby'okulwanyisa olw'entalo, batabaale Midiyaani, okuwoolera eggwanga lya Mukama ku Midiyaani. 04NUM031.004 Of every tribe a thousand, throughout all the tribes of Israel, shall ye send to the war. %%% Munaggya ku buli kika lukumi okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, ne mubatuma okutabaala. 04NUM031.005 So there were delivered out of the thousands of Israel, a thousand of every tribe, twelve thousand armed for war. %%% Awo ne baleeta ku nkumi za Isiraeri, ku buli kika lukumi, kakumi mu enkumi bbiri nga balina eby'okulwanyisa olw'entalo. 04NUM031.006 And Moses sent them to the war, a thousand of every tribe, them and Phinehas the son of Eleazar the priest, to the war, with the holy instruments, and the trumpets to blow in his hand. %%% Musa n'abasindika okutabaala, ku buli kika lukumi, bo ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, okutabaala, awamu n'ebintu eby'omu watukuvu n'amakondeere agalawa mu mukono gwe. 04NUM031.007 And they warred against the Midianites, as the LORD commanded Moses; and they slew all the males. %%% Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta buli musajja. 04NUM031.008 And they slew the kings of Midian, beside the rest of them that were slain; namely, Evi, and Rekem, and Zur, and Hur, and Reba, five kings of Midian: Balaam also the son of Beor they slew with the sword. %%% Ne batta bakabaka ba Midiyaani wamu n'abalala abattibwa; Evi ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba, bakabaka ba Midiyaani abataano: ne Balamu mutabani wa Byoli baamutta n'ekitala. 04NUM031.009 And the children of Israel took all the women of Midian captives, and their little ones, and took the spoil of all their cattle, and all their flocks, and all their goods. %%% Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi ba Midiyaani n'abaana baabwe abato; n'ebisibo byabwe byonna, n'embuzi zaabwe zonna, n'ebintu byabwe byonna ne babitwala okuba omunyago. 04NUM031.010 And they burnt all their cities wherein they dwelt, and all their goodly castles, with fire. %%% N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne babyokya omuliro. 04NUM031.011 And they took all the spoil, and all the prey, both of men and of beasts. %%% Ne batwala omunyago gwonna ne bye baafuna byonna, oba nga bantu oba nga nsolo. 04NUM031.012 And they brought the captives, and the prey, and the spoil, unto Moses, and Eleazar the priest, and unto the congregation of the children of Israel, unto the camp at the plains of Moab, which are by Jordan near Jericho. %%% Ne baleeta omwandu ne bye baafuna n'omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona n'eri ekibiina ky'abaana ba Isiraeri, eri olusiisira olwali mu nsenyi za Mowaabu, eziri ku Yoludaani e Yeriko. 04NUM031.013 And Moses, and Eleazar the priest, and all the princes of the congregation, went forth to meet them without the camp. %%% Awo Musa ne Eriyazaali kabona n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okubasisinkana ebweru w'olusiisira. 04NUM031.014 And Moses was wroth with the officers of the host, with the captains over thousands, and captains over hundreds, which came from the battle. %%% Musa n'asuguwalira abaami b'eggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, abaava mu kuweereza mu lutabaalo. 04NUM031.015 And Moses said unto them, Have ye saved all the women alive? %%% Musa n'abagamba nti Abakazi bonna mubawonyezza okufa? 04NUM031.016 Behold, these caused the children of Israel, through the counsel of Balaam, to commit trespass against the LORD in the matter of Peor, and there was a plague among the congregation of the LORD. %%% Laba, bano be baasobesa abaana ba Isiraeri ku Mukama, olw'okuteesa kwa Balamu, mu bigambo bya Peoli, bw'atyo kawumpuli n'aba mu kibiina kya Mukama. 04NUM031.017 Now therefore kill every male among the little ones, and kill every woman that hath known man by lying with him. %%% Kale nno kaakano mutte buli musajja ku baana abato, era mutte buli mukazi eyamanya omusajja ng'asula naye. 04NUM031.018 But all the women children, that have not known a man by lying with him, keep alive for yourselves. %%% Naye abaana abato ab'obuwala, abatamanyanga musajja nga basula naye, mubeewonyeze obutafa. 04NUM031.019 And do ye abide without the camp seven days: whosoever hath killed any person, and whosoever hath touched any slain, purify both yourselves and your captives on the third day, and on the seventh day. %%% Era musiisire ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: buli eyatta omuntu yenna, era buli eyakoma ku muntu yenna eyattibwa, mwerongoose ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, mmwe n'omwandu gwammwe. 04NUM031.020 And purify all your raiment, and all that is made of skins, and all work of goats' hair, and all things made of wood. %%% Na buli kyambalo na buli kintu eky'eddiba, n'omulimu gwonna ogw'ebikuzzi by'embuzi, n'ebintu byonna eby'emiti, muneerongoosa. 04NUM031.021 And Eleazar the priest said unto the men of war which went to the battle, This is the ordinance of the law which the LORD commanded Moses; %%% Eriyazaali kabona n'agamba abasajja abatabaazi abaatabaala nti Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama ky'alagidde Musa: 04NUM031.022 Only the gold, and the silver, the brass, the iron, the tin, and the lead, %%% naye zaabu ne ffeeza, ekikomo, ekyuma, ebbaati, n'erisasi, 04NUM031.023 Every thing that may abide the fire, ye shall make it go through the fire, and it shall be clean: nevertheless it shall be purified with the water of separation: and all that abideth not the fire ye shall make go through the water. %%% buli kintu ekiyinza omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiba kirongoofu; naye kinaalongoosebwa n'amazzi ag'okwawula: n'ebyo byonna ebitayinza muliro munaabiyisa mu mazzi. 04NUM031.024 And ye shall wash your clothes on the seventh day, and ye shall be clean, and afterward ye shall come into the camp. %%% Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira. 04NUM031.025 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM031.026 Take the sum of the prey that was taken, both of man and of beast, thou, and Eleazar the priest, and the chief fathers of the congregation: %%% Bala omuwendo gw'omunyago ogwanyagibwa, abantu era n'ensolo, ggwe ne Eriyazaali kabona n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ekibiina: 04NUM031.027 And divide the prey into two parts; between them that took the war upon them, who went out to battle, and between all the congregation: %%% mwawulemu omunyago ebitundu bibiri; eky'abasajja abamanyi entalo abaatabaala, n'eky'ekibiina kyonna: 04NUM031.028 And levy a tribute unto the Lord of the men of war which went out to battle: one soul of five hundred, both of the persons, and of the beeves, and of the asses, and of the sheep: %%% omusolooleze Mukama omusolo ku basajja abatabaazi abaatabaala: buli bitaano obulamu bumu, ku bantu ne ku nte ne ku ndogoyi ne ku mbuzi: 04NUM031.029 Take it of their half, and give it unto Eleazar the priest, for an heave offering of the LORD. %%% guggye ku kitundu kyabwe, oguwe Eriyazaali kabona, okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama. 04NUM031.030 And of the children of Israel's half, thou shalt take one portion of fifty, of the persons, of the beeves, of the asses, and of the flocks, of all manner of beasts, and give them unto the Levites, which keep the charge of the tabernacle of the LORD. %%% Ne ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri onoggyako obumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu, ku nte, ku ndogoyi, ne ku mbuzi, ku nsolo zonna, n'obuwa Abaleevi, abakuuma ennyumba ya Mukama gye baateresebwa. 04NUM031.031 And Moses and Eleazar the priest did as the LORD commanded Moses. %%% Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM031.032 And the booty, being the rest of the prey which the men of war had caught, was six hundred thousand and seventy thousand and five thousand sheep, %%% N'eby'okugereka ebyafikkawo ku munyago abasajja abatabaazi gwe baanyaga, byali endiga obusiriivu mukaaga mu obukumi musanvu mu enkumi ttaano, 04NUM031.033 And threescore and twelve thousand beeves, %%% n'ente obukumi musanvu mu enkumi bbiri, 04NUM031.034 And threescore and one thousand asses, %%% n'endogoyi obukumi mukaaga mu lukumi, 04NUM031.035 And thirty and two thousand persons in all, of women that had not known man by lying with him. %%% n'abantu obukumi busatu mu enkumi bbiri okugatta bonna, ku bakazi abatamanyanga musajja nga basula naye. 04NUM031.036 And the half, which was the portion of them that went out to war, was in number three hundred thousand and seven and thirty thousand and five hundred sheep: %%% N'ekitundu ekyali eky'abo abaatabaala, omuwendo gwakyo kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano: 04NUM031.037 And the LORD's tribute of the sheep was six hundred and threescore and fifteen. %%% n'omusolo gwa Mukama ogw'oku ndiga gwali lukaaga mu nsanvu mu ttaano. 04NUM031.038 And the beeves were thirty and six thousand; of which the LORD's tribute was threescore and twelve. %%% N'ente zaali obukumi busatu mu kakaaga; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nsanvu mu bbiri. 04NUM031.039 And the asses were thirty thousand and five hundred; of which the LORD's tribute was threescore and one. %%% N'endogoyi zaali obukumi busatu mu bitaano; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nkaaga mu emu. 04NUM031.040 And the persons were sixteen thousand; of which the LORD's tribute was thirty and two persons. %%% N'abantu baali kakumi mu kakaaga; ku abo omusolo gwa Mukama gwali abantu asatu mu babiri. 04NUM031.041 And Moses gave the tribute, which was the LORD's heave offering, unto Eleazar the priest, as the LORD commanded Moses. %%% Musa n'awa Eriyazaali kabona omusolo, kye kyali ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM031.042 And of the children of Israel's half, which Moses divided from the men that warred, %%% Musa n'aggya ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri, Musa kye yayawula ng'akiggya ku basajja abaatabaala, 04NUM031.043 (Now the half that pertained unto the congregation was three hundred thousand and thirty thousand and seven thousand and five hundred sheep, %%% (era ekitundu eky'ekibiina kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano, 04NUM031.044 And thirty and six thousand beeves, %%% n'ente obukumi busatu mu kakaaga, 04NUM031.045 And thirty thousand asses and five hundred, %%% n'endogoyi obukumi busatu mu bitaano, 04NUM031.046 And sixteen thousand persons;) %%% n'abantu kakumi mu kakaaga;) 04NUM031.047 Even of the children of Israel's half, Moses took one portion of fifty, both of man and of beast, and gave them unto the Levites, which kept the charge of the tabernacle of the LORD; as the LORD commanded Moses. %%% ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri Musa n'aggya obulamu bumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu era ne ku nsolo, n'abiwa Abaleevi abaakuumanga ennyumba ya Mukama gye baateresebwa; nga Mukama bwe yalagira Musa. 04NUM031.048 And the officers which were over thousands of the host, the captains of thousands, and captains of hundreds, came near unto Moses: %%% N'abaami abaatwala enkumi ez'omu ggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, ne basemberera Musa: 04NUM031.049 And they said unto Moses, Thy servants have taken the sum of the men of war which are under our charge, and there lacketh not one man of us. %%% ne bagamba Musa nti Abaddu bo babaze omuwendo gw'abasajja abatabaazi be tutwala, so tekubuzeeko muntu n'omu ku ffe. 04NUM031.050 We have therefore brought an oblation for the LORD, what every man hath gotten, of jewels of gold, chains, and bracelets, rings, earrings, and tablets, to make an atonement for our souls before the LORD. %%% Era tuleese ekirabo kya Mukama, buli muntu ky'afunye, eby'obuyonjo ebya zaabu, emikuufu egy'oku magulu, n'emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, n'ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama 04NUM031.051 And Moses and Eleazar the priest took the gold of them, even all wrought jewels. %%% Musa ne Eriyazaali kabona ne babaggyako ezaabu, eby'obuyonjo byonna ebiweese. 04NUM031.052 And all the gold of the offering that they offered up to the LORD, of the captains of thousands, and of the captains of hundreds, was sixteen thousand seven hundred and fifty shekels. %%% Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa kye baawaayo eri Mukama; nga bagiggya ku baami b'enkumi ne ku baami b'ebikumi, yali sekeri kakumi mu kakaaga mu lusanvu mu ataano. 04NUM031.053 (For the men of war had taken spoil, every man for himself.) %%% (Kubanga abasajja abatabaazi; baali beenyagidde ebintu, buli muntu ebibye.) 04NUM031.054 And Moses and Eleazar the priest took the gold of the captains of thousands and of hundreds, and brought it into the tabernacle of the congregation, for a memorial for the children of Israel before the LORD. %%% Musa ne Eriyazaali kabona ne batwala ezaabu ey'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, ne bagireeta mu weema ey'okusisinkanirangamu, okuba nga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama. 04NUM032.001 Now the children of Reuben and the children of Gad had a very great multitude of cattle: and when they saw the land of Jazer, and the land of Gilead, that, behold, the place was a place for cattle; %%% Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini: awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi, nga, laba, ekifo ekyo kifo kya nsolo; 04NUM032.002 The children of Gad and the children of Reuben came and spake unto Moses, and to Eleazar the priest, and unto the princes of the congregation, saying, %%% abaana ba Gaadi n’abaaaa ba Lewubeeni ne bajja ne bagamba Musa ne Eriyazaali kabona n'abakulu ab'ekibiina nti 04NUM032.003 Ataroth, and Dibon, and Jazer, and Nimrah, and Heshbon, and Elealeh, and Shebam, and Nebo, and Beon, %%% Atalisi ne Diboni ne Yazeri ne Nimula ne Kesuboni ne Ereale ne Sebamu ne Nebo ne Beoni, 04NUM032.004 Even the country which the LORD smote before the congregation of Israel, is a land for cattle, and thy servants have cattle: %%% ensi Mukama gye yakuba mu maaso g'ekibiina kya Isiraeri, ensi ya nsolo, n'abaddu bo balina ensolo. 04NUM032.005 Wherefore, said they, if we have found grace in thy sight, let this land be given unto thy servants for a possession, and bring us not over Jordan. %%% Ne boogera nti Oba nga tulabye ekisa mu maaso go, ensi eno eweebwe abaddu bo okuba obutaka; totusomosa Yoludaani. 04NUM032.006 And Moses said unto the children of Gad and to the children of Reuben, Shall your brethren go to war, and shall ye sit here? %%% Musa n'agamba abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga mutudde wano? 04NUM032.007 And wherefore discourage ye the heart of the children of Israel from going over into the land which the LORD hath given them? %%% Era kiki ekibakeŋŋenterezesa omwoyo gw'abaana ba Isiraeri obutasomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa? 04NUM032.008 Thus did your fathers, when I sent them from Kadeshbarnea to see the land. %%% Bakitammwe bwe baakola bwe batyo bwe nnabatuma nga nnyima e Kadesubanea okulaba ensi. 04NUM032.009 For when they went up unto the valley of Eshcol, and saw the land, they discouraged the heart of the children of Israel, that they should not go into the land which the LORD had given them. %%% Kubanga bwe baayambuka mu kiwonvu e Esukoli, ne balaba ensi, ne bakeŋŋentereza omwoyo gw'abaana ba Isiraeri, baleme okuyingira mu nsi Mukama gye yali abawadde. 04NUM032.010 And the LORD's anger was kindled the same time, and he sware, saying, %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku luli, n'alayira ng'agunba nti 04NUM032.011 Surely none of the men that came up out of Egypt, from twenty years old and upward, shall see the land which I sware unto Abraham, unto Isaac, and unto Jacob; because they have not wholly followed me: %%% Mazima tewaliba ku basajja abaalinnya okuva mu Misiri, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, abaliraba ensi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo; kubanga tebangobereredde ddala: 04NUM032.012 Save Caleb the son of Jephunneh the Kenezite, and Joshua the son of Nun: for they have wholly followed the LORD. %%% wabula Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi ne Yoswa mutabani wa Nuni: kubanga abo bagobereredde ddala Mukama. 04NUM032.013 And the LORD's anger was kindled against Israel, and he made them wander in the wilderness forty years, until all the generation, that had done evil in the sight of the LORD, was consumed. %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatambulizatambuliza eyo n'eyo mu ddungu emyaka ana, okutuusa ezzadde lyonna abaali bakoze obubi mu maaso ga Mukama lwe baazikirira. 04NUM032.014 And, behold, ye are risen up in your fathers' stead, an increase of sinful men, to augment yet the fierce anger of the LORD toward Israel. %%% Era, laba, mmwe muyimiridde mu kifo kya bakitammwe, okwala okw'abantu abalina ebibi, okwongera nate ekiruyi kya Mukama eri Isiraeri. 04NUM032.015 For if ye turn away from after him, he will yet again leave them in the wilderness; and ye shall destroy all this people. %%% Kubanga bwe munaakyuka obutamugoberera, anaabaleka nate omulundi ogw'okubiri mu ddungu nammwe munaazikiriza abantu bano bonna. 04NUM032.016 And they came near unto him, and said, We will build sheepfolds here for our cattle, and cities for our little ones: %%% Ne bamusemberera ne bagamba nti Tunaazimbira ensolo zaffe ebiraalo wano, n'ebibuga olw'abaana baffe abato: 04NUM032.017 But we ourselves will go ready armed before the children of Israel, until we have brought them unto their place: and our little ones shall dwell in the fenced cities because of the inhabitants of the land. %%% naye ffe bennyini tuliba nga tweteeseteese nga tukutte eby'okulwanyisa okukulembera abaana ba Isiraeri okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu kifo kyabwe: n’abaana baffe abato balituula mu bibuga ebiriko enkomera olw'abo abatuula mu nsi. 04NUM032.018 We will not return unto our houses, until the children of Israel have inherited every man his inheritance. %%% Tetulikomawo mu nnyumba zaffe, okutuusa abaana ba Isiraeri lwe balimala okusikira buli muntu obusika bwe. 04NUM032.019 For we will not inherit with them on yonder side Jordan, or forward; because our inheritance is fallen to us on this side Jordan eastward. %%% Kubanga tetulisikira wamu nabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo; kubanga obusika bwaffe butugwiridde emitala w'eno ewa Yoludaani ebuvanjuba. 04NUM032.020 And Moses said unto them, If ye will do this thing, if ye will go armed before the LORD to war, %%% Musa n'abagamba nti Bwe munaakola ekigambo ekyo; bwe munaakwata eby'okulwanyisa okukulembera Mukama okutabaala, 04NUM032.021 And will go all of you armed over Jordan before the LORD, until he hath driven out his enemies from before him, %%% na buli musajja ku mmwe alina eby'okulwanyisa bw'anaasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama, okutuusa lw'aligobera ddala abalabe be mu maaso ge, 04NUM032.022 And the land be subdued before the LORD: then afterward ye shall return, and be guiltless before the LORD, and before Israel; and this land shall be your possession before the LORD. %%% ensi n'ewangulwa mu maaso ga Mukama: awo oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, ne mutabaako musango eri Mukama n'eri Isiraeri; n'ensi eno eneebanga butaka gye muli mu maaso ga Mukama. 04NUM032.023 But if ye will not do so, behold, ye have sinned against the LORD: and be sure your sin will find you out. %%% Naye bwe mutaakole bwe mutyo, laba, nga mwonoonye Mukama: era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga. 04NUM032.024 Build you cities for your little ones, and folds for your sheep; and do that which hath proceeded out of your mouth. %%% Muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'endiga zammwe; era mukole ekyo ekifulumye mu kammwa kammwe. 04NUM032.025 And the children of Gad and the children of Reuben spake unto Moses, saying, Thy servants will do as my lord commandeth. %%% Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti Abaddu bo banaakola nga mukama wange bw'alagidde. 04NUM032.026 Our little ones, our wives, our flocks, and all our cattle, shall be there in the cities of Gilead: %%% Abaffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonaa binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi: 04NUM032.027 But thy servants will pass over, every man armed for war, before the LORD to battle, as my lord saith. %%% naye abaddu bo banaasomoka, buli musajja alina eby'okulwanyisa olw'entalo, mu maaso ga Mukama okutabaala, mukama wange bw'ayogedde. 04NUM032.028 So concerning them Moses commanded Eleazar the priest, and Joshua the son of Nun, and the chief fathers of the tribes of the children of Israel: %%% Awo Musa n'alagira Eriyazaali kabona ebigambo byabwe ne Yoswa mutabani wa Nuni n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika by'abaana ba Isiraeri. 04NUM032.029 And Moses said unto them, If the children of Gad and the children of Reuben will pass with you over Jordan, every man armed to battle, before the LORD, and the land shall be subdued before you; then ye shall give them the land of Gilead for a possession: %%% Musa n'abagamba nti Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja alina eby'okulwanyisa olw'entalo, mu maaso ga Mukama, ensi n'ewangulwa mu maaso gammwe; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka: 04NUM032.030 But if they will not pass over with you armed, they shall have possessions among you in the land of Canaan. %%% naye, bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, baliba n'obutaka mu mmwe mu nsi ya Kanani. 04NUM032.031 And the children of Gad and the children of Reuben answered, saying, As the LORD hath said unto thy servants, so will we do. %%% Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne baddamu nti Nga Mukama bw'agambye abaddu bo, bwe tutyo bwe tunaakola. 04NUM032.032 We will pass over armed before the LORD into the land of Canaan, that the possession of our inheritance on this side Jordan may be ours. %%% Tunaasomoka nga tukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama okuyingira mu nsi ya Kanani, era obutaka obw'obusika bwaffe bulibeera naffe emitala wa Yoludaani. 04NUM032.033 And Moses gave unto them, even to the children of Gad, and to the children of Reuben, and unto half the tribe of Manasseh the son of Joseph, the kingdom of Sihon king of the Amorites, and the kingdom of Og king of Bashan, the land, with the cities thereof in the coasts, even the cities of the country round about. %%% Musa n'abawa bo, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w'Abamoli n'obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, ensi ng'ebibuga byayo bwe byali wamu n'ensalo zaabyo, bye bibuga eby'omu nsi eriraanyeewo. 04NUM032.034 And the children of Gad built Dibon, and Ataroth, and Aroer, %%% Abaana ba Gaadi ne bazimba Diboni ne Atalosi ne Aloweri; 04NUM032.035 And Atroth, Shophan, and Jaazer, and Jogbehah, %%% ne Aterosisofani ne Yazeri ne Yogubeka; 04NUM032.036 And Bethnimrah, and Bethharan, fenced cities: and folds for sheep. %%% ne Besunimira ne Besukalaani: ebibuga ebiriko enkomera n'ebisibo by'endiga. 04NUM032.037 And the children of Reuben built Heshbon, and Elealeh, and Kirjathaim, %%% Abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni ne Ereale ne Kiriyasayimu; 04NUM032.038 And Nebo, and Baalmeon, (their names being changed,) and Shibmah: and gave other names unto the cities which they builded. %%% ne Nebo ne Baalumyoni, (nga bawaanyisizza amannya gaabyo), ne Sibima: ne babituuma amannya amalala ebibuga bye baazimba. 04NUM032.039 And the children of Machir the son of Manasseh went to Gilead, and took it, and dispossessed the Amorite which was in it. %%% Abaana ba Makiri mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi, ne bakirya, ne bagobamu Abamoli abaali omwo. 04NUM032.040 And Moses gave Gilead unto Machir the son of Manasseh; and he dwelt therein. %%% Musa n'awa Makiri mutabani wa Manase Gireyaadi; n'abeera omwo. 04NUM032.041 And Jair the son of Manasseh went and took the small towns thereof, and called them Havothjair. %%% Yayiri mutabani wa Manase n'agenda n'alya ebibuga byayo, n'abiyita Kavosuyayiri. 04NUM032.042 And Nobah went and took Kenath, and the villages thereof, and called it Nobah, after his own name. %%% Noba n'agenda n'alya Kenasi, n'ebyalo byakyo, n'akituuma Noba, ng'erinnya lye ye bwe lyali. 04NUM033.001 These are the journeys of the children of Israel, which went forth out of the land of Egypt with their armies under the hand of Moses and Aaron. %%% Bino bye biramago eby'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri ng'eggye lyabwe bwe lyali wansi w'omukono gwa Musa ne Alooni. 04NUM033.002 And Moses wrote their goings out according to their journeys by the commandment of the LORD: and these are their journeys according to their goings out. %%% Musa n'awandiika okusitula kwabwe ng'ebiramago byabwe bwe byali olw'ekiragiro kya Mukama: era bino bye biramago byabwe ng'okusitula kwabwe bwe kwali. 04NUM033.003 And they departed from Rameses in the first month, on the fifteenth day of the first month; on the morrow after the passover the children of Israel went out with an high hand in the sight of all the Egyptians. %%% Ne basitula e Lamesesi mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'olubereberye; ku lw'enkya Okuyitako nga kuwedde abaana ba Isiraeri ne bavaayo n'omukono ogwagulumizibwa mu maaso g'Abamisiri bonna, 04NUM033.004 For the Egyptians buried all their firstborn, which the LORD had smitten among them: upon their gods also the LORD executed judgments. %%% Abamisiri bwe baali nga bakyaziika ababereberye baabwe bonna Mukama be yakuba mu bo: ne ku bakatonda baabwe Mukama n'awalana emisango. 04NUM033.005 And the children of Israel removed from Rameses, and pitched in Succoth. %%% Abaana ba Isiraeri ne basitula e Lamesesi, ne basiisira e Sukkosi. 04NUM033.006 And they departed from Succoth, and pitched in Etham, which is in the edge of the wilderness. %%% Ne basitula e Sukkosi, ne basiisira e Yesamu, ekiri ku mabbali g'eddungu. 04NUM033.007 And they removed from Etham, and turned again unto Pihahiroth, which is before Baalzephon: and they pitched before Migdol. %%% Ne basitula e Yesamu ne badda ennyuma okntuuka e Pikakirosi, ekyolekera Baalizefoni: ne basiisira okwolekera Migudooli. 04NUM033.008 And they departed from before Pihahiroth, and passed through the midst of the sea into the wilderness, and went three days' journey in the wilderness of Etham, and pitched in Marah. %%% Ne basitula e Kakirosi, ne bayita wakati mu nnyanja ne bayingira mu ddungu: ne batambula olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu ery'e Yesamu, ne basiisira mu Mala. 04NUM033.009 And they removed from Marah, and came unto Elim: and in Elim were twelve fountains of water, and threescore and ten palm trees; and they pitched there. %%% Ne basitula e Mala ne batuuka e Erimu: era mu Erimu waaliwo ensulo z'amazzi kkumi na bbiri, n'enkindu nsanvu; ne basiisira eyo. 04NUM033.010 And they removed from Elim, and encamped by the Red sea. %%% Ne basitula e Erimu, ne basiisira ku Nnyanja Emmyufu. 04NUM033.011 And they removed from the Red sea, and encamped in the wilderness of Sin. %%% Ne basitula okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu ddungu Sini. 04NUM033.012 And they took their journey out of the wilderness of Sin, and encamped in Dophkah. %%% Ne basitula okuva mu ddungu Sini, ne basiisira e Dofuka. 04NUM033.013 And they departed from Dophkah, and encamped in Alush. %%% Ne basitula e Dofuka, ne basiisira e Yalusi. 04NUM033.014 And they removed from Alush, and encamped at Rephidim, where was no water for the people to drink. %%% Ne basitula e Yalusi, ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywa. 04NUM033.015 And they departed from Rephidim, and pitched in the wilderness of Sinai. %%% Ne basitula e Lefidimu, ne basiisira mu ddungu lya Sinaayi. 04NUM033.016 And they removed from the desert of Sinai, and pitched at Kibrothhattaavah. %%% Ne basitula okuva mu ddungu lya Sinaayi, ne basiisira e Kiberosukataava. 04NUM033.017 And they departed from Kibrothhattaavah, and encamped at Hazeroth. %%% Ne basitula e Kiberosukataava, ne basiisira e Kazerosi. 04NUM033.018 And they departed from Hazeroth, and pitched in Rithmah. %%% Ne basitula e Kazerosi, ne basiisira e Lisuma. 04NUM033.019 And they departed from Rithmah, and pitched at Rimmonparez. %%% Ne basitula e Lisuma, ne basiisira e Limoniperezi. 04NUM033.020 And they departed from Rimmonparez, and pitched in Libnah. %%% Ne basitula e Limoniperezi, ne basiisira e Libuna. 04NUM033.021 And they removed from Libnah, and pitched at Rissah. %%% Ne basitula e Libuna, ne basiisira e Lisa. 04NUM033.022 And they journeyed from Rissah, and pitched in Kehelathah. %%% Ne basitula e Lisa, ne basiisira e Kekerasa. 04NUM033.023 And they went from Kehelathah, and pitched in mount Shapher. %%% Ne basitula e Kekerasa, ne basiisira ku lusozi Seferi. 04NUM033.024 And they removed from mount Shapher, and encamped in Haradah. %%% Ne basitula okuva ku lusozi Seferi, ne basiisira e Kalada. 04NUM033.025 And they removed from Haradah, and pitched in Makheloth. %%% Ne basitula e Kalada, ne basiisira e Makerosi. 04NUM033.026 And they removed from Makheloth, and encamped at Tahath. %%% Ne basitula e Makerosi, ne basiisira e Takasi. 04NUM033.027 And they departed from Tahath, and pitched at Tarah. %%% Ne basitula e Takasi, ne basiisira e Tera. 04NUM033.028 And they removed from Tarah, and pitched in Mithcah. %%% Ne basitula e Tera, ne basiisira e Misuka. 04NUM033.029 And they went from Mithcah, and pitched in Hashmonah. %%% Ne basitula e Misuka, ne basiisira e Kasumona. 04NUM033.030 And they departed from Hashmonah, and encamped at Moseroth. %%% Ne basitula e Kasumona, ne basiisira e Moserosi. 04NUM033.031 And they departed from Moseroth, and pitched in Benejaakan. %%% Ne basitula e Moserosi, ne basiisira e Beneyakani. 04NUM033.032 And they removed from Benejaakan, and encamped at Horhagidgad. %%% Ne basitula e Beneyakani, ne basiisira e Kolukagidugada. 04NUM033.033 And they went from Horhagidgad, and pitched in Jotbathah. %%% Ne basitula e Kolukagidugada, ne basiirisa e Yorubasa. 04NUM033.034 And they removed from Jotbathah, and encamped at Ebronah. %%% Ne basitula e Yorubasa, ne basiisira e Yabulona. 04NUM033.035 And they departed from Ebronah, and encamped at Eziongaber. %%% Ne basitula e Yabulona, ne basiisira e Ezyonigeba. 04NUM033.036 And they removed from Eziongaber, and pitched in the wilderness of Zin, which is Kadesh. %%% Ne basitula e Ezyonigeba, ne basiisira mu ddungu Zini (ye Kadesi): 04NUM033.037 And they removed from Kadesh, and pitched in mount Hor, in the edge of the land of Edom. %%% Ne basitula e Kadesi, ne basiisira ku lusozi Koola, ku mabbali g'ensi ya Edomu. 04NUM033.038 And Aaron the priest went up into mount Hor at the commandment of the LORD, and died there, in the fortieth year after the children of Israel were come out of the land of Egypt, in the first day of the fifth month. %%% Alooni kabona n'alinnya ku lusozi Koola olw'ekiragiro kya Mukama, n'afiira okwo, abaana ba Isiraeri nga baakamaze emyaka ana okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwezi ogw'okutaano, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi. 04NUM033.039 And Aaron was an hundred and twenty and three years old when he died in mount Hor. %%% Era Alooni yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku lusozi Koola. 04NUM033.040 And king Arad the Canaanite, which dwelt in the south in the land of Canaan, heard of the coming of the children of Israel. %%% N'Omukanani, kabaka w'e Yaladi, eyatuulanga ebukiika obwa ddyo mu nsi ya Kanani, n'awulira abaana ba Isiraeri nga bajja. 04NUM033.041 And they departed from mount Hor, and pitched in Zalmonah. %%% Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona. 04NUM033.042 And they departed from Zalmonah, and pitched in Punon. %%% Ne basitula e Zalumona, ne basiisira e Punoni. 04NUM033.043 And they departed from Punon, and pitched in Oboth. %%% Ne basitula e Punoni, ne basiisira e Yobosi. 04NUM033.044 And they departed from Oboth, and pitched in Ijeabarim, in the border of Moab. %%% Ne basitula e Yobosi, ne basiisira e Iyeabalimu, ku mabbali ga Mowaabu. 04NUM033.045 And they departed from Iim, and pitched in Dibongad. %%% Ne basitula e Iyeabalimu, ne basiisira e Dibonugadi. 04NUM033.046 And they removed from Dibongad, and encamped in Almondiblathaim. %%% Ne basitula e Dibonugadi, ne basiisira e Yalumonudibulasaimu. 04NUM033.047 And they removed from Almondiblathaim, and pitched in the mountains of Abarim, before Nebo. %%% Ne basitula e Yalumonudibulasaimu, ne basiisira ku nsozi Abalimu, okwolekera Nebo. 04NUM033.048 And they departed from the mountains of Abarim, and pitched in the plains of Moab by Jordan near Jericho. %%% Ne basitula okuva ku nsozi Abalimu, ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko. 04NUM033.049 And they pitched by Jordan, from Bethjesimoth even unto Abelshittim in the plains of Moab. %%% Ne basiisira ku Yoludaani, okuva e Besuyesimosi okutuuka e Yaberisitimu mu nsenyi za Mowaabu. 04NUM033.050 And the LORD spake unto Moses in the plains of Moab by Jordan near Jericho, saying, %%% Mukama n'agambira Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti 04NUM033.051 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When ye are passed over Jordan into the land of Canaan; %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani, 04NUM033.052 Then ye shall drive out all the inhabitants of the land from before you, and destroy all their pictures, and destroy all their molten images, and quite pluck down all their high places: %%% kale muligobamu bonna abatuula mu nsi mu maaso gammwe, ne muzikiriza amayinja gaabwe gonna agaliko ebifaananyi, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebifumbe, ne musuulasuula ebifo byabwe byonna ebigulumivu: 04NUM033.053 And ye shall dispossess the inhabitants of the land, and dwell therein: for I have given you the land to possess it. %%% era mulirya ensi ne mutuula omwo: kubanga mmwe ngiwadde ensi okugirya. 04NUM033.054 And ye shall divide the land by lot for an inheritance among your families: and to the more ye shall give the more inheritance, and to the fewer ye shall give the less inheritance: every man's inheritance shall be in the place where his lot falleth; according to the tribes of your fathers ye shall inherit. %%% Era mulisikira ensi n'obululu ng'enda zammwe bwe ziri; abayinga obungi mulibawa obusika okusukkiriza, n'abatono olibawa obusika okukendeezaako: wonna wonna akalulu we kaligwirira omuntu, kale we waliba awawe; ng'ebika bya bakitammwe bwe biri bwe mulisika bwe mutyo. 04NUM033.055 But if ye will not drive out the inhabitants of the land from before you; then it shall come to pass, that those which ye let remain of them shall be pricks in your eyes, and thorns in your sides, and shall vex you in the land wherein ye dwell. %%% Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulisigaza ku bo banaabanga ng'ebifumita mu maaso gammwe era ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, era banaabateganyanga mu nsi gye mulituulamu. 04NUM033.056 Moreover it shall come to pass, that I shall do unto you, as I thought to do unto them. %%% Awo olulituuka, nga bwe nnali ndowooza okubakola bo, bwe ntyo bwe ndibakola mmwe. 04NUM034.001 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM034.002 Command the children of Israel, and say unto them, When ye come into the land of Canaan; (this is the land that shall fall unto you for an inheritance, even the land of Canaan with the coasts thereof:) %%% Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani, (eyo ye nsi eribagwira okuba obusika, ensi ya Kanani ng'ensalo zaayo bwe ziri,) 04NUM034.003 Then your south quarter shall be from the wilderness of Zin along by the coast of Edom, and your south border shall be the outmost coast of the salt sea eastward: %%% kale oluuyi lwammwe olw'obukiika obwa ddyo luliva ku ddungu Zini ne luyita ku mabbali ga Edomu, n'ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo eriva ku nkomerero y'Ennyanja Ey'omunnyo ebuvanjuba: 04NUM034.004 And your border shall turn from the south to the ascent of Akrabbim, and pass on to Zin: and the going forth thereof shall be from the south to Kadeshbarnea, and shall go on to Hazaraddar, and pass on to Azmon: %%% n'ensalo yammwe erikyukira ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka Ezini: n'enkomerero yaayo eriba ku luuyi olw'obukiika olwa ddyo olw'e Kadesubanea; era erifuluma okutuuka e Kazaladali, n'eyita n'etuuka e Yazimoni: 04NUM034.005 And the border shall fetch a compass from Azmon unto the river of Egypt, and the goings out of it shall be at the sea. %%% era ensalo erikyukira okuva e Yazimoni okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'enkomerero yaayo eriba ku nnyanja. 04NUM034.006 And as for the western border, ye shall even have the great sea for a border: this shall be your west border. %%% N'okuba ensalo ey'ebugwanjuba, muliba n'ennyanja ennene n'ensalo yaayo: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'ebugwanjuba. 04NUM034.007 And this shall be your north border: from the great sea ye shall point out for you mount Hor: %%% N'eno y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono: okuva ku nnyanja ennene mulyerambira olusozi Koola: 04NUM034.008 From mount Hor ye shall point out your border unto the entrance of Hamath; and the goings forth of the border shall be to Zedad: %%% okuva ku lusozi Koola muliramba okutuuka w'oyingirira e Kamasi; n'enkomerero y'ensalo eriba ku Zedada: 04NUM034.009 And the border shall go on to Ziphron, and the goings out of it shall be at Hazarenan: this shall be your north border. %%% era ensalo erifuluma okutuuka e Zifuloni, n'enkomerero yaayo eriba ku Kazalenaani: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono. 04NUM034.010 And ye shall point out your east border from Hazarenan to Shepham: %%% Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba okuva e Kazalenaani okutuuka e Sefamu: 04NUM034.011 And the coast shall go down from Shepham to Riblah, on the east side of Ain; and the border shall descend, and shall reach unto the side of the sea of Chinnereth eastward: %%% era ensalo eriva e Sefamu n'ekka e Libula ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yaini; era ensalo erikka, n'etuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kianeresi ebuvanjuba: 04NUM034.012 And the border shall go down to Jordan, and the goings out of it shall be at the salt sea: this shall be your land with the coasts thereof round about. %%% era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Ey'omunnyo: eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna. 04NUM034.013 And Moses commanded the children of Israel, saying, This is the land which ye shall inherit by lot, which the LORD commanded to give unto the nine tribes, and to the half tribe: %%% Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Eyo ye nsi gye mulisikira n'obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekika eky'ekitundu: 04NUM034.014 For the tribe of the children of Reuben according to the house of their fathers, and the tribe of the children of Gad according to the house of their fathers, have received their inheritance; and half the tribe of Manasseh have received their inheritance: %%% kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, baamala okuweebwa obusika bwabwe n'ekika eky'ekitundu ekya Manase baamala okubuweebwa: 04NUM034.015 The two tribes and the half tribe have received their inheritance on this side Jordan near Jericho eastward, toward the sunrising. %%% ebika ebibiri n'ekika eky'ekitundu baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani e Yeriko ebuvanjuba enjuba gy'eva. 04NUM034.016 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM034.017 These are the names of the men which shall divide the land unto you: Eleazar the priest, and Joshua the son of Nun. %%% Gano ge mannya g'abasajja abalibagabira ensi okuba obusika: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuni. 04NUM034.018 And ye shall take one prince of every tribe, to divide the land by inheritance. %%% Era mulitwala omukulu omu ku buli kika, okugaba ensi okuba obusika. 04NUM034.019 And the names of the men are these: Of the tribe of Judah, Caleb the son of Jephunneh. %%% Era gano ge manaya g'abasajja: ku kika kya Yuda Kalebu mutabani wa Yefune. 04NUM034.020 And of the tribe of the children of Simeon, Shemuel the son of Ammihud. %%% Ne ku kika ky'abaaaa ba Simyoni Semweri mutabani wa Ammikudi. 04NUM034.021 Of the tribe of Benjamin, Elidad the son of Chislon. %%% Ku kika kya Benyamini, Eridaadi mutabani wa Kisuloni. 04NUM034.022 And the prince of the tribe of the children of Dan, Bukki the son of Jogli. %%% Ne ku kika ky'abaana ba Ddaani, omukulu omu Buki mutabani wa Yoguli. 04NUM034.023 The prince of the children of Joseph, for the tribe of the children of Manasseh, Hanniel the son of Ephod. %%% Ku baana ba Yusufu: ku kika ky'abaana ba Manase, omukulu omu Kanieri mutabani wa Efodi; 04NUM034.024 And the prince of the tribe of the children of Ephraim, Kemuel the son of Shiphtan. %%% ne ku kika ky'abaana ba Efulayimu omukulu omu Kamueri mutabani wa Sifutani. 04NUM034.025 And the prince of the tribe of the children of Zebulun, Elizaphan the son of Parnach. %%% Ne ku kika ky'abaana ba Zebbulooni, omukulu omu Erizafani mutabani wa Palunaki. 04NUM034.026 And the prince of the tribe of the children of Issachar, Paltiel the son of Azzan. %%% Ne ku kika ky'abaana ba Isakaali, omukulu omu Palutieri mutabani wa Azani. 04NUM034.027 And the prince of the tribe of the children of Asher, Ahihud the son of Shelomi. %%% Ne ku kika ky'abaana ba Aseri, omukulu omu Akikuda mutabaai wa Seromi. 04NUM034.028 And the prince of the tribe of the children of Naphtali, Pedahel the son of Ammihud. %%% Ne ku kika ky'abaana ba Nafutaali, omukulu omu Pedakeri mutabani wa Ammikudi. 04NUM034.029 These are they whom the LORD commanded to divide the inheritance unto the children of Israel in the land of Canaan. %%% Abo be baabo Mukama be yalagira okugabira abaana ba Isiraeri obusika mu nsi ya Kanaani. 04NUM035.001 And the LORD spake unto Moses in the plains of Moab by Jordan near Jericho, saying, %%% Mukama n'agambira Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti 04NUM035.002 Command the children of Israel, that they give unto the Levites of the inheritance of their possession cities to dwell in; and ye shall give also unto the Levites suburbs for the cities round about them. %%% Lagira abaana ba Isiraeri okuwa Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku busika obw'obutaka bwabwe; era n'amalundiro ag'oku bibuga agabyetoolodde muligawa Abaleevi. 04NUM035.003 And the cities shall they have to dwell in; and the suburbs of them shall be for their cattle, and for their goods, and for all their beasts. %%% N'ebibuga banaabanga nabyo okusulamu: n'amalundiro gaako ganaabanga ga bisibo byabwe era ga bintu byabwe era ga nsolo zaabwe zonna. 04NUM035.004 And the suburbs of the cities, which ye shall give unto the Levites, shall reach from the wall of the city and outward a thousand cubits round about. %%% N'amalundiro ag'oku bibuga, ge muliwa Abaleevi, galiva ku bbugwe w'ekibuga n'okweyongerayo emikono lukumi enjuyi zonna. 04NUM035.005 And ye shall measure from without the city on the east side two thousand cubits, and on the south side two thousand cubits, and on the west side two thousand cubits, and on the north side two thousand cubits; and the city shall be in the midst: this shall be to them the suburbs of the cities. %%% Era muligera ebweru w'ekibuga ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'obukiika obwa kkono emikono enkumi bbiri, ekibuga nga kiri wakati. Ago ge galiba gye bali amalundiro ag'oku bibuga. 04NUM035.006 And among the cities which ye shall give unto the Levites there shall be six cities for refuge, which ye shall appoint for the manslayer, that he may flee thither: and to them ye shall add forty and two cities. %%% N'ebibuga bye muliwa Abaleevi, biriba ebibuga mukaaga eby'okuddukiramu, bye muliwa omussi w'omuntu okuddukira omwo: era mulyongera ku ebyo ebibuga ana mu bibiri. 04NUM035.007 So all the cities which ye shall give to the Levites shall be forty and eight cities: them shall ye give with their suburbs. %%% Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana; byo n'amalundiro gaabyo. 04NUM035.008 And the cities which ye shall give shall be of the possession of the children of Israel: from them that have many ye shall give many; but from them that have few ye shall give few: every one shall give of his cities unto the Levites according to his inheritance which he inheriteth. %%% N'ebibuga bye muliggya ku butaka obw'abaana ba Isiraeri okubigaba, ku bangi muliggyako bingi; ne ku batono muliggyako bitono: buli muntu ng'obusika bwe bwe buliba bw'alisikira, bw'atyo bw'aligabira Abaleevi ku bibuga bye. 04NUM035.009 And the LORD spake unto Moses, saying, %%% Mukama n'agamba Musa nti 04NUM035.010 Speak unto the children of Israel, and say unto them, When ye be come over Jordan into the land of Canaan; %%% Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani, 04NUM035.011 Then ye shall appoint you cities to be cities of refuge for you; that the slayer may flee thither, which killeth any person at unawares. %%% kale mulyerondera ebibuga okuba ebibuga eby'okuddukiramu gye muli; omussi w'omuntu anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukire omwo. 04NUM035.012 And they shall be unto you cities for refuge from the avenger; that the manslayer die not, until he stand before the congregation in judgment. %%% N'ebibuga binaabanga gye muli bya kuddukirangamu eri omuwoolezi w'eggwanga; omussi w'omuntu alemenga okufa nga tannayimirira mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango. 04NUM035.013 And of these cities which ye shall give six cities shall ye have for refuge. %%% N'ebibuga bye muliwa biriba gye muli ebibuga mukaaga bya kuddukiramu. 04NUM035.014 Ye shall give three cities on this side Jordan, and three cities shall ye give in the land of Canaan, which shall be cities of refuge. %%% Muliwa ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani, era muliwa ebibuga bisatu mu nsi ya Kanani; binaabanga bibuga bya kuddukirangamu. 04NUM035.015 These six cities shall be a refuge, both for the children of Israel, and for the stranger, and for the sojourner among them: that every one that killeth any person unawares may flee thither. %%% Eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi n'eri oyo atuula mu bo, ebibuga ebyo omukaaga binaabanga bya kuddukirangamu: buli anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukirenga omwo. 04NUM035.016 And if he smite him with an instrument of iron, so that he die, he is a murderer: the murderer shall surely be put to death. %%% Naye oba nga yamukuba n'ekintu eky'ekyuma n'okufa n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa. 04NUM035.017 And if he smite him with throwing a stone, wherewith he may die, and he die, he is a murderer: the murderer shall surely be put to death. %%% Era oba nga yamukuba n'ejjinja ng'alikutte mu ngalo, eriyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa. 04NUM035.018 Or if he smite him with an hand weapon of wood, wherewith he may die, and he die, he is a murderer: the murderer shall surely be put to death. %%% Oba nga yamukuba n'ekintu eky'omuti ng'akikutte mu ngalo, ekiyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa. 04NUM035.019 The revenger of blood himself shall slay the murderer: when he meeteth him, he shall slay him. %%% Omuwoolezi w'omusaayi yennyini ye anattanga omussi w'omuntu: lw'amusisinkananga lw'amuttanga. 04NUM035.020 But if he thrust him of hatred, or hurl at him by laying of wait, that he die; %%% Era oba nga yamufumita olw'okumukyawa, oba yamukasuukirira, ng'ateeze, n'okufa n'afa; 04NUM035.021 Or in enmity smite him with his hand, that he die: he that smote him shall surely be put to death; for he is a murderer: the revenger of blood shall slay the murderer, when he meeteth him. %%% oba yamukuba n'ekikonde olw'obulabe, n'okufa n'afa: eyamukuba talemanga kuttibwa; oyo mussi wa muntu: omuwoolezi w'omusaayi alitta omussi w'omuntu; lw'alimusisinkana. 04NUM035.022 But if he thrust him suddenly without enmity, or have cast upon him any thing without laying of wait, %%% Naye oba nga yamufumita mangu awatali bulabe, oba yamukasuukirira ekintu kyonna nga tateeze, 04NUM035.023 Or with any stone, wherewith a man may die, seeing him not, and cast it upon him, that he die, and was not his enemy, neither sought his harm: %%% oba ejjinja lyonna eriyinza okutta omuntu, nga tamulabye, n'alimusuulako, n'okufa n'afa, so tabanga mulabe we, so teyayagala kumukola bubi: 04NUM035.024 Then the congregation shall judge between the slayer and the revenger of blood according to these judgments: %%% kale ekibiina banaasalanga omusango gw'oyo eyakuba n'omuwoolezi w'omusaayi ng'emisango egyo bwe giri: 04NUM035.025 And the congregation shall deliver the slayer out of the hand of the revenger of blood, and the congregation shall restore him to the city of his refuge, whither he was fled: and he shall abide in it unto the death of the high priest, which was anointed with the holy oil. %%% era ekibiina banaawonyanga omussi w'omuntu mu mukono gw'omuwoolezi w'omusaayi, era ekibiina banaamuzzangayo mu kibuga kye eky'okuddukirangamu kye yali addukiddemu: era anaasulanga omwo okutuusa kabona omukulu eyafukibwako amafuta amatukuvu lw'anaafanga. 04NUM035.026 But if the slayer shall at any time come without the border of the city of his refuge, whither he was fled; %%% Naye omussi w'omuntu bw'anaabanga ayise ku nsalo y'ekibuga kye eky'okuddukirangamu, ky'addukiramu; 04NUM035.027 And the revenger of blood find him without the borders of the city of his refuge, and the revenger of blood kill the slayer; he shall not be guilty of blood: %%% omuwoolezi w'omusaayi n'amusanga ng'ali bweru w'ensalo y'ekibuga kye eky'okuddukirangamu, omuwoolezi w'omusaayi n'atta omussi w'omuntu; tabangako musango gwa musaayi: 04NUM035.028 Because he should have remained in the city of his refuge until the death of the high priest: but after the death of the high priest the slayer shall return into the land of his possession. %%% kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'okuddukirangamu okutuusa kabona omukulu lwe yandifudde: naye kabona omukulu ng'amaze okufa kale omussi w'omuntu anaddangayo mu nsi ey'obutaka bwe. 04NUM035.029 So these things shall be for a statute of judgment unto you throughout your generations in all your dwellings. %%% Era ebyo binaabanga tteeka lya musango gye muli mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna. 04NUM035.030 Whoso killeth any person, the murderer shall be put to death by the mouth of witnesses: but one witness shall not testify against any person to cause him to die. %%% Buli anattanga omuntu yenna, omussi w'omuntu anattibwanga olw'akamwa k'abajulirwa: naye omujulirwa omu talumirizanga muntu yenna okumutta. 04NUM035.031 Moreover ye shall take no satisfaction for the life of a murderer, which is guilty of death: but he shall be surely put to death. %%% Era temukkirizanga bya kununula bulamu bwa mussi wa muntu, asaanidde okufa: naye talemanga kuttibwa. 04NUM035.032 And ye shall take no satisfaction for him that is fled to the city of his refuge, that he should come again to dwell in the land, until the death of the priest. %%% So temukkirizanga bya kununula oyo eyaddukira mu kibuga kye eky'okuddukirangamu, akomewo okutuula mu nsi, okutuusa kabona lw'alifa. 04NUM035.033 So ye shall not pollute the land wherein ye are: for blood it defileth the land: and the land cannot be cleansed of the blood that is shed therein, but by the blood of him that shed it. %%% Bwe mutyo temwonoonanga nsi gye mulimu: kubanga omusaayi, ogwo gwe gwonoona ensi: so n'ensi teyinza kutangirirwa olw'omusaayi oguyiise omwo, wabula n'omusaayi gw'oyo eyaguyiwa. 04NUM035.034 Defile not therefore the land which ye shall inhabit, wherein I dwell: for I the LORD dwell among the children of Israel. %%% So temwonoonanga nsi gye mutuulamu, gye mbeeramu wakati: kubanga nze Mukama mbeera wakati mu baana ba Isiraeri. 04NUM036.001 And the chief fathers of the families of the children of Gilead, the son of Machir, the son of Manasseh, of the families of the sons of Joseph, came near, and spake before Moses, and before the princes, the chief fathers of the children of Israel: %%% Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'enda y'abaana ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ow'oku nda za batabani ba Yusufu, ne basembera ne boogerera mu maaso ga Musa ne mu maaso g'abakulu, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri: 04NUM036.002 And they said, The LORD commanded my lord to give the land for an inheritance by lot to the children of Israel: and my lord was commanded by the LORD to give the inheritance of Zelophehad our brother unto his daughters. %%% ne boogera nti Mukama yalagira mukama wange okugabira abaana ba Isiraeri ensi n'obululu okuba obusika: era mukama wange yalagirwa Mukama okugabira obusika bwa Zerofekadi muganda waffe bawala be. 04NUM036.003 And if they be married to any of the sons of the other tribes of the children of Israel, then shall their inheritance be taken from the inheritance of our fathers, and shall be put to the inheritance of the tribe whereunto they are received: so shall it be taken from the lot of our inheritance. %%% Era bwe banaafumbirwanga yenna ku baana b'ebika by'abaana ba Isiraeri ebirala, kale obusika bwabwe bunaggibwanga ku busika bwa bakitaffe, ne bugattibwa ku busika obw'ekika kye balibaamu: bwe butyo buliggibwa ku mugabo gw'obusika bwaffe. 04NUM036.004 And when the jubile of the children of Israel shall be, then shall their inheritance be put unto the inheritance of the tribe whereunto they are received: so shall their inheritance be taken away from the inheritance of the tribe of our fathers. %%% Awo jjubiri ogw'abaana ba Isiraeri bwe gulituuka, kale obusika bwabwe buligattibwa ku busika obw'ekika ekiriba ekyabwe: bwe butyo obusika bwabwe buliggibwa ku busika obw'ekika kya bakitaffe. 04NUM036.005 And Moses commanded the children of Israel according to the word of the LORD, saying, The tribe of the sons of Joseph hath said well. %%% Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ng'ayogera nti Ekika kya batabani ba Yusufu boogera bya nsonga. 04NUM036.006 This is the thing which the LORD doth command concerning the daughters of Zelophehad, saying, Let them marry to whom they think best; only to the family of the tribe of their father shall they marry. %%% Kino kye kigambo Mukama ky'alagira ku bawala ba Zerofekadi, ng'ayogera nti Bafumbirwenga gwe banaasiimanga; kyokka ku nda y'ekika kya kitaabwe kwe banaafumbirwanga. 04NUM036.007 So shall not the inheritance of the children of Israel remove from tribe to tribe: for every one of the children of Israel shall keep himself to the inheritance of the tribe of his fathers. %%% Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obw'abaana ba Isiraeri obunaakyukanga okuva mu kika okuyingira mu kika kinnaakyo: kubanga abaana ba Isiraeri baneegattanga buli muntu n'obusika obw'ekika kya bakitaabwe. 04NUM036.008 And every daughter, that possesseth an inheritance in any tribe of the children of Israel, shall be wife unto one of the family of the tribe of her father, that the children of Israel may enjoy every man the inheritance of his fathers. %%% Na buli muwala, anaabanga n'obusika mu kika kyonna eky'abaana ba Isiraeri, anaabanga mukazi w'omu ku nda ey'ekika kya kitaawe, abaana ba Isiraeri balyoke balye buli muntu obusika bwa bakitaabwe. 04NUM036.009 Neither shall the inheritance remove from one tribe to another tribe; but every one of the tribes of the children of Israel shall keep himself to his own inheritance. %%% Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obunaakyukanga okuva mu kika okuyingira mu kika ekirala; kubanga ebika by'abaana ba Isiraeri baneegattanga buli muntu n'obusika bwe ye. 04NUM036.010 Even as the LORD commanded Moses, so did the daughters of Zelophehad: %%% Nga Mukama bwe yalagira Musa, bwe batyo bawala ba Zerofekadi bwe baakola: 04NUM036.011 For Mahlah, Tirzah, and Hoglah, and Milcah, and Noah, the daughters of Zelophehad, were married unto their father's brothers' sons: %%% kubanga Maala, Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, bawala ba Zerofekadi, ne bafumbirwa batabani ba baganda ba kitaabwe. 04NUM036.012 And they were married into the families of the sons of Manasseh the son of Joseph, and their inheritance remained in the tribe of the family of their father. %%% Baafumbirwa ku nda za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, obusika bwabwe ne bubeeranga mu kika eky'enda ya kitaabwe. 04NUM036.013 These are the commandments and the judgments, which the LORD commanded by the hand of Moses unto the children of Israel in the plains of Moab by Jordan near Jericho. %%% Ebyo bye biragiro n'emisango, Mukama bye yalagira abaana ba Isiraeri n'omukono gwa Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko. 05DEU001.001 These be the words which Moses spake unto all Israel on this side Jordan in the wilderness, in the plain over against the Red sea, between Paran, and Tophel, and Laban, and Hazeroth, and Dizahab. %%% Bino bye bigambo Musa bye yabuulira Isiraeri yenna emitala wa Yoludaani mu ddungu, mu Alaba awoolekera Sufu, wakati We Palani ne Toferi ne Labani ne Kazerosi ne Dizakabu. 05DEU001.002 (There are eleven days' journey from Horeb by the way of mount Seir unto Kadeshbarnea.) %%% Lwe lugendo olw'ennaku ekkumi n'olumu okuva e Kolebu okuyita awali olusozi Seyiri okutuuka e Kadesubanea. 05DEU001.003 And it came to pass in the fortieth year, in the eleventh month, on the first day of the month, that Moses spake unto the children of Israel, according unto all that the LORD had given him in commandment unto them; %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi ana, mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, ku lunaku olw'omwezi ogw'olubereberye, Musa n'ayogera n'abaana ba Isiraeri, nga byonna bwe byali Mukama bye yamulagira okubabuulira; 05DEU001.004 After he had slain Sihon the king of the Amorites, which dwelt in Heshbon, and Og the king of Bashan, which dwelt at Astaroth in Edrei: %%% bwe yamala okutta Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka We Basani, eyatuulanga mu Asutaloosi, mu Ederei: 05DEU001.005 On this side Jordan, in the land of Moab, began Moses to declare this law, saying, %%% emitala wa Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatanulira okulangira amateeka gano, 05DEU001.006 The LORD our God spake unto us in Horeb, saying, Ye have dwelt long enough in this mount: %%% ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe yayogerera naffe ku Kolebu, ng'ayogera nti Mwaludde okutuula ku lusozi luno: 05DEU001.007 Turn you, and take your journey, and go to the mount of the Amorites, and unto all the places nigh thereunto, in the plain, in the hills, and in the vale, and in the south, and by the sea side, to the land of the Canaanites, and unto Lebanon, unto the great river, the river Euphrates. %%% mukyuke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ey'olusenyi, ne mu Bukiika obwa ddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y’Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati. 05DEU001.008 Behold, I have set the land before you: go in and possess the land which the LORD sware unto your fathers, Abraham, Isaac, and Jacob, to give unto them and to their seed after them. %%% Laba, ensi ngitadde mu maaso gammwe: muyingire, mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, okubawa bo n'ezzadde lyabwe eririddawo. 05DEU001.009 And I spake unto you at that time, saying, I am not able to bear you myself alone: %%% Nange nnayogera nammwe mu biro ebyo, nga ŋŋamba nti Nze siyinza kubasitula nzekka: 05DEU001.010 The LORD your God hath multiplied you, and, behold, ye are this day as the stars of heaven for multitude. %%% Mukama Katonda wammwe abongedde, era, laba, leero muli ng’emmunyeenye ez’omu ggullu okuba obungi. 05DEU001.011 (The LORD God of your fathers make you a thousand times so many more as ye are, and bless you, as he hath promised you!) %%% Mukama, Katonda wa bajjajja bammwe, abongere emirundi lukumi okusinga nga bwe muli, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza! 05DEU001.012 How can I myself alone bear your cumbrance, and your burden, and your strife? %%% Nze nnyinza ntya nzekka okusitula okutegana kwammwe n'omugugu gwammwe n'okuyomba kwammwe? 05DEU001.013 Take you wise men, and understanding, and known among your tribes, and I will make them rulers over you. %%% Mwetwalire abasajja ab'amagezi era abategeevu era ab'amaanyi, ng'ebika byammwe bwe biri, nange ndibafuula abakulu bammwe. 05DEU001.014 And ye answered me, and said, The thing which thou hast spoken is good for us to do. %%% Nammwe ne muddamu ne mwogera nti Ekigambo ky'oyogedde kirungi ffe okukikola. 05DEU001.015 So I took the chief of your tribes, wise men, and known, and made them heads over you, captains over thousands, and captains over hundreds, and captains over fifties, and captains over tens, and officers among your tribes. %%% Kale ne ntwala abakulu b'ebika byammwe, abasajja ab'amagezi, era ab'amaanyi, ne mbafuula abakulu bammwe, abaami b'enkumi, era abaami b'ebikumi, era abaami b'ataano, era abaami b'amakumi, era abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri. 05DEU001.016 And I charged your judges at that time, saying, Hear the causes between your brethren, and judge righteously between every man and his brother, and the stranger that is with him. %%% Era nnakuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy'ensonga omuntu ne muganda we ne munnaggwanga ali awamu naye. 05DEU001.017 Ye shall not respect persons in judgment; but ye shall hear the small as well as the great; ye shall not be afraid of the face of man; for the judgment is God's: and the cause that is too hard for you, bring it unto me, and I will hear it. %%% Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n'abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda: era ensonga eneebalemanga mugireetanga gye ndi, nange naagiwuliranga. 05DEU001.018 And I commanded you at that time all the things which ye should do. %%% Era nabalagira mu biro ebyo byonna eby'abagwanira okukola. 05DEU001.019 And when we departed from Horeb, we went through all that great and terrible wilderness, which ye saw by the way of the mountain of the Amorites, as the LORD our God commanded us; and we came to Kadeshbarnea. %%% Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba mu kkubo eriyita mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea. 05DEU001.020 And I said unto you, Ye are come unto the mountain of the Amorites, which the LORD our God doth give unto us. %%% Ne mbagamba nti Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwa. 05DEU001.021 Behold, the LORD thy God hath set the land before thee: go up and possess it, as the LORD God of thy fathers hath said unto thee; fear not, neither be discouraged. %%% Laba, Mukama Katonda wo attadde ensi mu maaso go: yambuka olye nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakugamba; totya so tokankana. 05DEU001.022 And ye came near unto me every one of you, and said, We will send men before us, and they shall search us out the land, and bring us word again by what way we must go up, and into what cities we shall come. %%% Ne musemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanatukulembera, batume abantu abaatukulembera, batukulemberere ensi, bakomewo batubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n’ebibuga bwe biri mwe tulituuka. 05DEU001.023 And the saying pleased me well: and I took twelve men of you, one of a tribe: %%% Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo: ne nnonda ku mmwe abantu kkumi na babiri, buli kika omuntu omu: 05DEU001.024 And they turned and went up into the mountain, and came unto the valley of Eshcol, and searched it out. %%% ne bakyuka ne balinnya ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu kya Esukoli, ne bakiketta. 05DEU001.025 And they took of the fruit of the land in their hands, and brought it down unto us, and brought us word again, and said, It is a good land which the LORD our God doth give us. %%% Ne batwala ku bibala by'ensi mu ngalo zaabwe, ne babireeta gye tuli, ne batubuulira ne boogera nti Ensi eyo nnungi Mukama Katonda waffe gy'atuwa. 05DEU001.026 Notwithstanding ye would not go up, but rebelled against the commandment of the LORD your God: %%% Naye mmwe ne mutakkiriza kwambuka, naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe: 05DEU001.027 And ye murmured in your tents, and said, Because the LORD hated us, he hath brought us forth out of the land of Egypt, to deliver us into the hand of the Amorites, to destroy us. %%% ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, ne mwogera nti Kubanga Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli, okutuzikiriza. 05DEU001.028 Whither shall we go up? our brethren have discouraged our heart, saying, The people is greater and taller than we; the cities are great and walled up to heaven; and moreover we have seen the sons of the Anakims there. %%% Twambuka wa? baganda baffe batusaanuusizza emitima gyaffe, nga boogera nti Abantu banene bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu; era twalabayo abaana ba Abanaki. 05DEU001.029 Then I said unto you, Dread not, neither be afraid of them. %%% Awo ne ndyoka mbagamba nti Temubatya, so temubatekemukira. 05DEU001.030 The LORD your God which goeth before you, he shall fight for you, according to all that he did for you in Egypt before your eyes; %%% Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga byonna bwe byali bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe; 05DEU001.031 And in the wilderness, where thou hast seen how that the LORD thy God bare thee, as a man doth bear his son, in all the way that ye went, until ye came into this place. %%% ne mu ddungu, mwe walabira Mukama Katonda wo bwe yakusitula ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino. 05DEU001.032 Yet in this thing ye did not believe the LORD your God, %%% Naye mu kigambo ekyo temwakkiriza Mukama Katonda wammwe, 05DEU001.033 Who went in the way before you, to search you out a place to pitch your tents in, in fire by night, to shew you by what way ye should go, and in a cloud by day. %%% eyabakulemberanga mu kkubo, okubanoonyezanga ekifo eky'okukubiramu eweema zammwe, ng'ayima mu muliro ekiro, okubalaganga ekkubo lye munaayitamu, ne mu kire emisana. 05DEU001.034 And the LORD heard the voice of your words, and was wroth, and sware, saying, %%% Awo Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti 05DEU001.035 Surely there shall not one of these men of this evil generation see that good land, which I sware to give unto your fathers, %%% Mazima tewalibawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliraba ensi ennungi, gye nnalayirira okuwa bajjajja bammwe, 05DEU001.036 Save Caleb the son of Jephunneh; he shall see it, and to him will I give the land that he hath trodden upon, and to his children, because he hath wholly followed the LORD. %%% wabula Kalebu omwana wa Yefune, oyo y'aligiraba; era oyo ndimuwa ensi gye yalinnyako n'abaana be: kubanga yagoberera Mukama mu byonna: 05DEU001.037 Also the LORD was angry with me for your sakes, saying, Thou also shalt not go in thither. %%% Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe, ng'ayogera nti Naawe toliyingira omwo: 05DEU001.038 But Joshua the son of Nun, which standeth before thee, he shall go in thither: encourage him: for he shall cause Israel to inherit it. %%% Yoswa omwana wa Nuni, ayimirira mu maaso go, oyo aliyingira omwo: mugumye omwoyo; kubanga ye aligisisa Isiraeri. 05DEU001.039 Moreover your little ones, which ye said should be a prey, and your children, which in that day had no knowledge between good and evil, they shall go in thither, and unto them will I give it, and they shall possess it. %%% Era n'abaana bammwe abato, be mwayogera nga bagenda okuba omwandu, n'abaana bammwe, abatamanyi leero birungi newakubadde ebibi, bo baliyingira omwo, era ndigibawa bo, era baligirya. 05DEU001.040 But as for you, turn you, and take your journey into the wilderness by the way of the Red sea. %%% Naye mmwe mukyuke mutambule mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu. 05DEU001.041 Then ye answered and said unto me, We have sinned against the LORD, we will go up and fight, according to all that the LORD our God commanded us. And when ye had girded on every man his weapons of war, ye were ready to go up into the hill. %%% Ne mulyoka muddamu ne muŋŋamba nti Tusobezza ku Mukama; tunaayambuka ne tulwana, nga byonna bwe biri Mukama Katonda waffe bye yatulagira. Ne mwesiba buli muntu ebibye eby'okulwanyisa, ne mwanguwa okulinnya ku lusozi. 05DEU001.042 And the LORD said unto me, Say unto them, Go not up, neither fight; for I am not among you; lest ye be smitten before your enemies. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Bagambe nti Temulinnya so temulwana; kubanga nze siri mu mmwe; muleme okugobebwa mu maaso g'abalabe bammwe: 05DEU001.043 So I spake unto you; and ye would not hear, but rebelled against the commandment of the LORD, and went presumptuously up into the hill. %%% Awo ne njogera nammwe, ne mutawulira; naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mukwatibwa amalala, ne mulinnya ku lusozi. 05DEU001.044 And the Amorites, which dwelt in that mountain, came out against you, and chased you, as bees do, and destroyed you in Seir, even unto Hormah. %%% Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba ne babagoba, ng'enjuki bwe zikola, ne babakubirakubira ku Seyiri okutuusa ku Koluma. 05DEU001.045 And ye returned and wept before the LORD; but the LORD would not hearken to your voice, nor give ear unto you. %%% Ne muddayo ne mukaaba amaziga mu maaso ga Mukama; naye Mukama n'atawulira ddoboozi lyammwe, so n'atabategera kutu. 05DEU001.046 So ye abode in Kadesh many days, according unto the days that ye abode there. %%% Awo ne mutuulira mu Kadesi ennaku nnyingi, ng'ennaku bwe ziri ze mwamalayo. 05DEU002.001 Then we turned, and took our journey into the wilderness by the way of the Red sea, as the LORD spake unto me: and we compassed mount Seir many days. %%% Awo ne tulyoka tukyuka, ne tutambula mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba: ne twetooloolera olusozi Seyiri ennaku nnyingi. 05DEU002.002 And the LORD spake unto me, saying, %%% Mukama n'ayogera nange nti 05DEU002.003 Ye have compassed this mountain long enough: turn you northward. %%% Mwaludde okwetooloola olusozi luno: mukyuke mugende ebukika obwa kkono. 05DEU002.004 And command thou the people, saying, Ye are to pass through the coast of your brethren the children of Esau, which dwell in Seir; and they shall be afraid of you: take ye good heed unto yourselves therefore: %%% Naawe lagira abantu ng'oyogera nti Mugenda kuyita mu nsalo ya baganda bammwe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, era bo balibatya: kale mwekuume nnyo mwekka: 05DEU002.005 Meddle not with them; for I will not give you of their land, no, not so much as a foot breadth; because I have given mount Seir unto Esau for a possession. %%% temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa ku nsi yaabwe newakubadde awalinnyibwa n'ekigere: kubanga nawa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka. 05DEU002.006 Ye shall buy meat of them for money, that ye may eat; and ye shall also buy water of them for money, that ye may drink. %%% Munaagulanga emmere na ffeeza gye bali mulyenga; era n'amazzi munaagagulanga na ffeeza gye bali munywenga. 05DEU002.007 For the LORD thy God hath blessed thee in all the works of thy hand: he knoweth thy walking through this great wilderness: these forty years the LORD thy God hath been with thee; thou hast lacked nothing. %%% Kubanga Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo: yamanya okutambula kwo mu ddungu lino eddene: emyaka gino amakumi ana Mukama Katonda wo ng'abeera wamu naawe; tewabangawo kye wabulwa: 05DEU002.008 And when we passed by from our brethren the children of Esau, which dwelt in Seir, through the way of the plain from Elath, and from Eziongaber, we turned and passed by the way of the wilderness of Moab. %%% Awo ne tuyita ku mabbali baganda baffe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, mu kkubo lya Alaba okuva mu Erasi ne Ezyonigeba. Ne tukyuka ne tuyita mu kkubo ly'omu ddungu lya Mowaabu. 05DEU002.009 And the LORD said unto me, Distress not the Moabites, neither contend with them in battle: for I will not give thee of their land for a possession; because I have given Ar unto the children of Lot for a possession. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Tosunguwaza Mowaabu so tolwana nabo mu lutalo: kubanga sijja kukuwa ku nsi ye okuba obutaka; kubanga nawa abaana ba Lutti Ali okuba obutaka. 05DEU002.010 The Emims dwelt therein in times past, a people great, and many, and tall, as the Anakims; %%% (Abemi baatuulanga omwo olubereberye, eggwanga ekkulu, era eddene era eggwanvu nga Abanaki bwe bali; 05DEU002.011 Which also were accounted giants, as the Anakims; but the Moabites call them Emims.%%% era nabo baayitibwa Balefa, nga Abanaki bwe bali; naye Abamowaabu baabayita Bemi. 05DEU002.012 The Horims also dwelt in Seir beforetime; but the children of Esau succeeded them, when they had destroyed them from before them, and dwelt in their stead; as Israel did unto the land of his possession, which the LORD gave unto them. %%% Era n'Abakooli baatuulanga ku Seyiri olubereberye, naye abaana ba Esawu ne babasikira; ne babazikiriza mu maaso gaabwe, ne batuula mu kifo kyabwe; nga Isiraeri bwe yakola ensi ey'obutaka bwe Mukama gye yabawa.) 05DEU002.013 Now rise up, said I, and get you over the brook Zered. And we went over the brook Zered. %%% Kale mugolokoke musomoke akagga Zeredi. Ne tusomoka akagga Zeredi. 05DEU002.014 And the space in which we came from Kadeshbarnea, until we were come over the brook Zered, was thirty and eight years; until all the generation of the men of war were wasted out from among the host, as the LORD sware unto them. %%% Era ennaku ze twamala kasookedde tuva e Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi zaali emyaka amakumi asatu mu munaana; okutuusa emirembe gyonna egy'abalwanyi lwe baggweerawo wakati mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira. 05DEU002.015 For indeed the hand of the LORD was against them, to destroy them from among the host, until they were consumed. %%% Era omukono gwa Mukama gwalwananga nabo, okubazikiriza wakati mu lusiisira, okutuusa lwe baggwaawo. 05DEU002.016 So it came to pass, when all the men of war were consumed and dead from among the people, %%% Awo olwatuuka, abalwanyi bonna bwe baamala okuggwaawo era nga bafudde mu bantu, 05DEU002.017 That the LORD spake unto me, saying, %%% Mukama n'alyoka aŋŋamba nti 05DEU002.018 Thou art to pass over through Ar, the coast of Moab, this day: %%% Leero onooyita mu Ali, ye nsalo ya Mowaabu: 05DEU002.019 And when thou comest nigh over against the children of Ammon, distress them not, nor meddle with them: for I will not give thee of the land of the children of Ammon any possession; because I have given it unto the children of Lot for a possession. %%% era bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasunguwaza so toyomba nabo: kubanga sijja kukuwa ku nsi y'abaana ba Amoni okuba obutaka: kubanga nagiwa abaana ba Lutti okuba obutaka. 05DEU002.020 (That also was accounted a land of giants: giants dwelt therein in old time; and the Ammonites call them Zamzummims; %%% (Era n'eyo eyitibwa nsi ya Balefa: Balefa baagituulangamu edda; naye Abamoni baabayita Bazamuzumu; 05DEU002.021 A people great, and many, and tall, as the Anakims; but the LORD destroyed them before them; and they succeeded them, and dwelt in their stead: %%% eggwanga ekkulu era eddene era eggwanvu. nga Abanaki bwe bali; naye Mukama yabazikiriza mu maaso gaabwe; ne babasikira ne batuula mu kifo kyabwe: 05DEU002.022 As he did to the children of Esau, which dwelt in Seir, when he destroyed the Horims from before them; and they succeeded them, and dwelt in their stead even unto this day: %%% nga bwe yakola abaana ba Esawu, abaatuula ku Seyiri, bwe yazikiriza Abakooli mu maaso gaabwe; ne babasikira, ne batuula mu kifo kyabwe okutuusa leero: 05DEU002.023 And the Avims which dwelt in Hazerim, even unto Azzah, the Caphtorims, which came forth out of Caphtor, destroyed them, and dwelt in their stead.) %%% n'Abavi abaatuulanga mu byalo okutuuka ku Gaza, Abakafutoli abaava mu Kafutoli ne babazikiriza ne batuula mu kifo kyabwe.) 05DEU002.024 Rise ye up, take your journey, and pass over the river Arnon: behold, I have given into thine hand Sihon the Amorite, king of Heshbon, and his land: begin to possess it, and contend with him in battle. %%% Mugolokoke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni: laba, ngabudde mu mukono gwo Sikoni Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, n'ensi ye: tanula okugirya, olwane naye mu lutalo. 05DEU002.025 This day will I begin to put the dread of thee and the fear of thee upon the nations that are under the whole heaven, who shall hear report of thee, and shall tremble, and be in anguish because of thee. %%% Leero naasooka okuteeka entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna, abaliwulira ettutumu lyo ne bakankana ne balumwa ku bubwo. 05DEU002.026 And I sent messengers out of the wilderness of Kedemoth unto Sihon king of Heshbon with words of peace, saying, %%% Ne ntuma ababaka okuva mu ddungu ery'e Kedemosi eri Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'ebigambo eby'emirembe, nga njogera nti 05DEU002.027 Let me pass through thy land: I will go along by the high way, I will neither turn unto the right hand nor to the left. %%% Mpite mu nsi yo: naatambuliranga mu luguudo, sijja kukyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono. 05DEU002.028 Thou shalt sell me meat for money, that I may eat; and give me water for money, that I may drink: only I will pass through on my feet; %%% Emmere ononguzanga na ffeeza ndyenga; n’amazzi onoonguzanga na ffeeza nywenga: kyokka mpitemu n'ebigere byange; 05DEU002.029 (As the children of Esau which dwell in Seir, and the Moabites which dwell in Ar, did unto me;) until I shall pass over Jordan into the land which the LORD our God giveth us. %%% ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe bankola; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani okugenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa. 05DEU002.030 But Sihon king of Heshbon would not let us pass by him: for the LORD thy God hardened his spirit, and made his heart obstinate, that he might deliver him into thy hand, as appeareth this day. %%% Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita ku mabbali ge: kubanga Mukama Katonda wo yakakanyaza omwoyo gwe, n'amuwaganyaza omutima gwe alyoke amugabule mu mukono gwo nga leero. 05DEU002.031 And the LORD said unto me, Behold, I have begun to give Sihon and his land before thee: begin to possess, that thou mayest inherit his land. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntanudde okugabula Sikoni n'ensi ye mu maaso go: tanula okulya ensi ye olyoke ogisikire. 05DEU002.032 Then Sihon came out against us, he and all his people, to fight at Jahaz. %%% Sikoni n'alyoka asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna okulwanira e Yakazi. 05DEU002.033 And the LORD our God delivered him before us; and we smote him, and his sons, and all his people. %%% Mukama Katonda waffe n'amugabula mu maaso gaffe; ne tumutta ye n'abaana be n'abantu be bonna. 05DEU002.034 And we took all his cities at that time, and utterly destroyed the men, and the women, and the little ones, of every city, we left none to remain: %%% Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; tetwasigazaawo n'omu: 05DEU002.035 Only the cattle we took for a prey unto ourselves, and the spoil of the cities which we took. %%% ente zokka ze twetwalira okuba omunyago, wamu n'ebyo bye twaggya mu bibuga bye twanyaga. 05DEU002.036 From Aroer, which is by the brink of the river of Arnon, and from the city that is by the river, even unto Gilead, there was not one city too strong for us: the LORD our God delivered all unto us: %%% Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, era okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi, tewali kibuga ekyatulema olw'obugulumivu bwakyo: Mukama Katonda waffe yagabula byonna mu maaso gaffe: 05DEU002.037 Only unto the land of the children of Ammon thou camest not, nor unto any place of the river Jabbok, nor unto the cities in the mountains, nor unto whatsoever the LORD our God forbad us. %%% kyokka tewasemberera nsi y'abaana ba Amoni: oluuyi lwonna olw'omugga Yaboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne yonna Mukama Katonda waffe gye yatugaana. 05DEU003.001 Then we turned, and went up the way to Bashan: and Og the king of Bashan came out against us, he and all his people, to battle at Edrei. %%% Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani: Ogi kabaka We Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okulwanira Ederei. 05DEU003.002 And the LORD said unto me, Fear him not: for I will deliver him, and all his people, and his land, into thy hand; and thou shalt do unto him as thou didst unto Sihon king of the Amorites, which dwelt at Heshbon. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Tomutya: kubanga mmugabudde ye n'abantu be bonna n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli abaatuulanga mu Kesuboni. 05DEU003.003 So the LORD our God delivered into our hands Og also, the king of Bashan, and all his people: and we smote him until none was left to him remaining. %%% Awo Mukama Katonda waffe n'agabula mu mukono gwaffe ne Ogi kabaka We Basani n'abantu be bonna: ne tumutta okutuusa lwe watamusigalirawo n'omu: 05DEU003.004 And we took all his cities at that time, there was not a city which we took not from them, threescore cities, all the region of Argob, the kingdom of Og in Bashan. %%% Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo; tewali kibuga kye tutaabanyagaako; ebibuga nkaaga, ensi yonna eya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani. 05DEU003.005 All these cities were fenced with high walls, gates, and bars; beside unwalled towns a great many. %%% Ebyo byonna byali bibuga ebyazimbibwako bbugwe omuwanvu n'enzigi n'ebisiba; obutassaako bibuga ebitaalina bbugwe bingi nnyo: 05DEU003.006 And we utterly destroyed them, as we did unto Sihon king of Heshbon, utterly destroying the men, women, and children, of every city. %%% Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato. 05DEU003.007 But all the cattle, and the spoil of the cities, we took for a prey to ourselves. %%% Naye ente zonna n'ebyo bye twanyaga mu bibuga, ne twetwalira okuba omunyago. 05DEU003.008 And we took at that time out of the hand of the two kings of the Amorites the land that was on this side Jordan, from the river of Arnon unto mount Hermon; %%% Era mu biro ebyo ne tuggya ensi mu mukono gwa bakabaka bombi ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni; 05DEU003.009 (Which Hermon the Sidonians call Sirion; and the Amorites call it Shenir;) %%% (Kerumooni Abasidoni bamuyita Siriyooni, n'Abamoli bamuyita Seniri;) 05DEU003.010 All the cities of the plain, and all Gilead, and all Bashan, unto Salchah and Edrei, cities of the kingdom of Og in Bashan. %%% ebibuga byonna eby'omu lusenyi, ne Gireyaadi yonna, ne Basani yonna, okutuusa ku Saleka ne Ederei, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani: 05DEU003.011 For only Og king of Bashan remained of the remnant of giants; behold, his bedstead was a bedstead of iron; is it not in Rabbath of the children of Ammon? nine cubits was the length thereof, and four cubits the breadth of it, after the cubit of a man. %%% (Kubanga Ogi kabaka w'e Basani ye yasigalawo yekka ku abo abaasigalawo ku Balefa; laba, ekitanda kye kyali kya kyuma; tekiri mu Labba eky'abaana ba Amoni? obuwanvu bwakyo emikono mwenda, n'obugazi bwakyo emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.) 05DEU003.012 And this land, which we possessed at that time, from Aroer, which is by the river Arnon, and half mount Gilead, and the cities thereof, gave I unto the Reubenites and to the Gadites. %%% N'ensi eyo ne tugirya mu biro ebyo: okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byayo n'abiwa Abalewubeeni n'Abagaadi: 05DEU003.013 And the rest of Gilead, and all Bashan, being the kingdom of Og, gave I unto the half tribe of Manasseh; all the region of Argob, with all Bashan, which was called the land of giants. %%% n'ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky'ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna, (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa. 05DEU003.014 Jair the son of Manasseh took all the country of Argob unto the coasts of Geshuri and Maachathi; and called them after his own name, Bashanhavothjair, unto this day. %%% Yayiri mutabani wa Manase n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi; n'agituuma ye Basani, ng'erinnya lye bwe lyali, Kavosuyayiri, okutuusa leero.) 05DEU003.015 And I gave Gilead unto Machir. %%% Gireyaadi n'empaayo Makiri, 05DEU003.016 And unto the Reubenites and unto the Gadites I gave from Gilead even unto the river Arnon half the valley, and the border even unto the river Jabbok, which is the border of the children of Ammon; %%% N'Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n'ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y'abaana ba Amoni; 05DEU003.017 The plain also, and Jordan, and the coast thereof, from Chinnereth even unto the sea of the plain, even the salt sea, under Ashdothpisgah eastward. %%% era ne Alaba ne Yoludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Eyomunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba. 05DEU003.018 And I commanded you at that time, saying, The LORD your God hath given you this land to possess it: ye shall pass over armed before your brethren the children of Israel, all that are meet for the war. %%% Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira. 05DEU003.019 But your wives, and your little ones, and your cattle, (for I know that ye have much cattle,) shall abide in your cities which I have given you; %%% Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe (mmanyi nga mulina ebisibo bingi) binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa; 05DEU003.020 Until the LORD have given rest unto your brethren, as well as unto you, and until they also possess the land which the LORD your God hath given them beyond Jordan: and then shall ye return every man unto his possession, which I have given you. %%% okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa. 05DEU003.021 And I commanded Joshua at that time, saying, Thine eyes have seen all that the LORD your God hath done unto these two kings: so shall the LORD do unto all the kingdoms whither thou passest. %%% Ne ndagira Yoswa mu biro ebyo nga njogera nti Amaaso go galabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano bombi: bw'atyo Mukama bw'alikola obwakabaka bwonna gye musomoka okugenda. 05DEU003.022 Ye shall not fear them: for the LORD your God he shall fight for you. %%% Temubatyanga: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo y'abalwanirira. 05DEU003.023 And I besought the LORD at that time, saying, %%% Ne nneegayirira Mukama mu biro ebyo nga ajogera nti 05DEU003.024 O Lord GOD, thou hast begun to shew thy servant thy greatness, and thy mighty hand: for what God is there in heaven or in earth, that can do according to thy works, and according to thy might? %%% Ai Mukama Katonda, otanudde okulaga omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri? 05DEU003.025 I pray thee, let me go over, and see the good land that is beyond Jordan, that goodly mountain, and Lebanon. %%% Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni. 05DEU003.026 But the LORD was wroth with me for your sakes, and would not hear me: and the LORD said unto me, Let it suffice thee; speak no more unto me of this matter. %%% Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira: Mukama n'aŋŋamba nti Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo. 05DEU003.027 Get thee up into the top of Pisgah, and lift up thine eyes westward, and northward, and southward, and eastward, and behold it with thine eyes: for thou shalt not go over this Jordan. %%% Linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba, olabe n'amaaso go: kubanga tolisomoka Yoludaani guno. 05DEU003.028 But charge Joshua, and encourage him, and strengthen him: for he shall go over before this people, and he shall cause them to inherit the land which thou shalt see. %%% Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba. 05DEU003.029 So we abode in the valley over against Bethpeor. %%% Awo ne tutuula mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli. 05DEU004.001 Now therefore hearken, O Israel, unto the statutes and unto the judgments, which I teach you, for to do them, that ye may live, and go in and possess the land which the LORD God of your fathers giveth you. %%% Ne kaakano, ggwe Isiraeri, wulira amateeka n'emisango, bye mbayigiriza, okubikolanga; mulyoke mube balamu, muyingire mulye ensi Mukama Katonda wa bajjajja bammwe gy'abawa. 05DEU004.002 Ye shall not add unto the word which I command you, neither shall ye diminish ought from it, that ye may keep the commandments of the LORD your God which I command you. %%% Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira, so temukisalangako, mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira. 05DEU004.003 Your eyes have seen what the LORD did because of Baalpeor: for all the men that followed Baalpeor, the LORD thy God hath destroyed them from among you. %%% Amaaso gammwe galabye Mukama kye yakola olwa Baalipyoli: kubanga abantu bonna abaagoberera Baalipyoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza wakati mu mmwe. 05DEU004.004 But ye that did cleave unto the LORD your God are alive every one of you this day. %%% Naye mmwe abeegatta ne Mukama Katonda wammwe mukyali balamu buli muntu ku mmwe leero. 05DEU004.005 Behold, I have taught you statutes and judgments, even as the LORD my God commanded me, that ye should do so in the land whither ye go to possess it. %%% Laba, mbayigirizza amateeka n'emisango, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mukolenga bwe mutyo wakati mu nsi gye muyingiramu okugirya. 05DEU004.006 Keep therefore and do them; for this is your wisdom and your understanding in the sight of the nations, which shall hear all these statutes, and say, Surely this great nation is a wise and understanding people. %%% Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe mu maaso g'amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab'amagezi era abategeera. 05DEU004.007 For what nation is there so great, who hath God so nigh unto them, as the LORD our God is in all things that we call upon him for? %%% Kubanga, ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw'ali bwe tumukoowoolanga? 05DEU004.008 And what nation is there so great, that hath statutes and judgments so righteous as all this law, which I set before you this day? %%% Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'emisango egy'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero? 05DEU004.009 Only take heed to thyself, and keep thy soul diligently, lest thou forget the things which thine eyes have seen, and lest they depart from thy heart all the days of thy life: but teach them thy sons, and thy sons' sons; %%% Kyokka weegendereze weekuume emmeeme yo ng'onyiikira, oleme okwerabira ebigambo amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; naye mubitegeezenga abaana bo n'abaana b'abaana bo; 05DEU004.010 Specially the day that thou stoodest before the LORD thy God in Horeb, when the LORD said unto me, Gather me the people together, and I will make them hear my words, that they may learn to fear me all the days that they shall live upon the earth, and that they may teach their children. %%% olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo ku Kolebu, Mukama bwe yaŋŋamba nti Nkuŋŋaanyiza abantu, nange naabawuliza ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaabanga abalamu ku nsi, era bayigirizenga abaana baabwe. 05DEU004.011 And ye came near and stood under the mountain; and the mountain burned with fire unto the midst of heaven, with darkness, clouds, and thick darkness. %%% Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olusozi ne lwaka n'omuliro okutuusa ku mutima gw'eggulu, n'ekizikiza, n'ekire, n'ekizikiza ekikutte. 05DEU004.012 And the LORD spake unto you out of the midst of the fire: ye heard the voice of the words, but saw no similitude; only ye heard a voice. %%% Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro: mwawulira eddoboozi ly'ebigambo, naye ne mutalaba kifaananyi kyonna; ddoboozi lyokka. 05DEU004.013 And he declared unto you his covenant, which he commanded you to perform, even ten commandments; and he wrote them upon two tables of stone. %%% N'ababuulira endagaano ye, gye yabalagira okukola, ge mateeka ekkumi; n'agawandiika ku bipande by'amayinja bibiri. 05DEU004.014 And the LORD commanded me at that time to teach you statutes and judgments, that ye might do them in the land whither ye go over to possess it. %%% Mukama n'andagira mu biro ebyo okubayigiriza amateeka n'emisango, mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya. 05DEU004.015 Take ye therefore good heed unto yourselves; for ye saw no manner of similitude on the day that the LORD spake unto you in Horeb out of the midst of the fire: %%% Kale mwekuume nnyo; kubanga temwalaba kifaananyi kyonna kyonna ku lunaku Mukama lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng'ayima wakati mu muliro: 05DEU004.016 Lest ye corrupt yourselves, and make you a graven image, the similitude of any figure, the likeness of male or female, %%% mulemenga okweyonoona ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kifaanana ekintu kyonna, ekifaananyi ky'ekisajja oba eky'ekikazi, 05DEU004.017 The likeness of any beast that is on the earth, the likeness of any winged fowl that flieth in the air, %%% ekifaananyi ky'ensolo yonna eri ku nsi, ekifaananyi ky'ennyonyi yonna erina ebiwaawaatiro ebuuka mu bbanga, 05DEU004.018 The likeness of any thing that creepeth on the ground, the likeness of any fish that is in the waters beneath the earth: %%% ekifaananyi ky'ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, ekifaaaanyi ky'ekyennyanja kyonna ekiri mu mazzi wansi w'ettaka: 05DEU004.019 And lest thou lift up thine eyes unto heaven, and when thou seest the sun, and the moon, and the stars, even all the host of heaven, shouldest be driven to worship them, and serve them, which the LORD thy God hath divided unto all nations under the whole heaven. %%% era olemenga okuyimusa amaaso go mu ggulu, n'olaba enjuba n'omwezi n'emmunyeenye, lye ggye lyonna ery'omu ggulu, n'osendebwasendebwa n'obisinza, n'obiweereza, Mukama Katonda wo bye yagabira amawanga gonna agali wansi w'eggulu lyonna: 05DEU004.020 But the LORD hath taken you, and brought you forth out of the iron furnace, even out of Egypt, to be unto him a people of inheritance, as ye are this day. %%% Naye Mukama yabatwala n'abaggya mu kikoomi eky'ekyuma, mu Misiri, okuba gy'ali abantu ab'envuma, nga leero. 05DEU004.021 Furthermore the LORD was angry with me for your sakes, and sware that I should not go over Jordan, and that I should not go in unto that good land, which the LORD thy God giveth thee for an inheritance: %%% Era nate Mukama yansunguwalira nze ku lwammwe, n'alayira nze obutasomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka: 05DEU004.022 But I must die in this land, I must not go over Jordan: but ye shall go over, and possess that good land. %%% naye kiŋŋwanira okufiira mu nsi muno, tekiŋŋwanira kusomoka Yoludaani: naye mmwe mulisomoka: ne mulya ensi eyo ennungi. 05DEU004.023 Take heed unto yourselves, lest ye forget the covenant of the LORD your God, which he made with you, and make you a graven image, or the likeness of any thing, which the LORD thy God hath forbidden thee. %%% Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana. 05DEU004.024 For the LORD thy God is a consuming fire, even a jealous God. %%% Kubanga Mukama Katonda wo gwe muliro ogwokya, Katonda ow'obuggya. 05DEU004.025 When thou shalt beget children, and children's children, and ye shall have remained long in the land, and shall corrupt yourselves, and make a graven image, or the likeness of any thing, and shall do evil in the sight of the LORD thy God, to provoke him to anger: %%% Bw'onoozaalanga abaana n'abaana b'abaana, era nga mumaze ebiro bingi mu nsi, era nga mumaze okweyonoona, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, ne mukola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, okumusunguwaza: 05DEU004.026 I call heaven and earth to witness against you this day, that ye shall soon utterly perish from off the land whereunto ye go over Jordan to possess it; ye shall not prolong your days upon it, but shall utterly be destroyed. %%% mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa eri mmwe leero, nga mulizikiririra ddala mangu ku nsi gye musomokera Yoludaani okugendamu okugirya; temuligimalako nnaku nnyingi, naye mulizikiririra ddala. 05DEU004.027 And the LORD shall scatter you among the nations, and ye shall be left few in number among the heathen, whither the LORD shall lead you. %%% Era Mukama alibasaasaanya mu mawanga, era mulisigalawo batono mu bantu, Mukama gy'alibatwala ewala. 05DEU004.028 And there ye shall serve gods, the work of men's hands, wood and stone, which neither see, nor hear, nor eat, nor smell. %%% Era muliweerereza eyo bakatonda, emirimu gy'emikono gy'abantu, emiti n'amayinja, ebitalaba newakubadde okuwulira newakubadde okulya newakubadde okuwunyiriza. 05DEU004.029 But if from thence thou shalt seek the LORD thy God, thou shalt find him, if thou seek him with all thy heart and with all thy soul. %%% Naye nga muyima eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga bw'onoomunoonyanga n'omutima gwo gwonna n'obulamu bwo bwonna. 05DEU004.030 When thou art in tribulation, and all these things are come upon thee, even in the latter days, if thou turn to the LORD thy God, and shalt be obedient unto his voice; %%% Bw'onooba ng'olabye ennaku; era ebyo byonna nga bikujjidde; mu nnaku ez'enkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, era onoowuliranga eddoboozi lye; 05DEU004.031 (For the LORD thy God is a merciful God;) he will not forsake thee, neither destroy thee, nor forget the covenant of thy fathers which he sware unto them. %%% kubanga Mukama Katonda wo Katonda wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira. 05DEU004.032 For ask now of the days that are past, which were before thee, since the day that God created man upon the earth, and ask from the one side of heaven unto the other, whether there hath been any such thing as this great thing is, or hath been heard like it? %%% Kubanga kale buuza ennaku ez'edda ezaakusooka, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda abantu ku nsi, era okuva ku nkomerero y'eggulu okutuuka ku nkomerero yaalyo, oba nga waabangawo ekifaanana ng'ekigambo kino ekikulu; oba kyawulirwanga ekiri bwe kityo. 05DEU004.033 Did ever people hear the voice of God speaking out of the midst of the fire, as thou hast heard, and live? %%% Waabangawo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera nga liva wakati mu muliro, nga ggwe bwe wawulira, ne baba balamu? 05DEU004.034 Or hath God assayed to go and take him a nation from the midst of another nation, by temptations, by signs, and by wonders, and by war, and by a mighty hand, and by a stretched out arm, and by great terrors, according to all that the LORD your God did for you in Egypt before your eyes? %%% Oba Katonda yali agezezzaako okugenda okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga linnaalyo, n'okukema n'obubonero n'eby'amagero n'entalo n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe? 05DEU004.035 Unto thee it was shewed, that thou mightest know that the LORD he is God; there is none else beside him. %%% Ggwe walagibwa bw'otyo olyoke omanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala wabula ye. 05DEU004.036 Out of heaven he made thee to hear his voice, that he might instruct thee: and upon earth he shewed thee his great fire; and thou heardest his words out of the midst of the fire. %%% Yakuwuliza eddoboozi lye ng'ayima mu ggulu alyoke akuyigirize: ne ku nsi yakulabya omulimu gwe omunene; n'owulira ebigambo bye nga biva wakati mu muliro. 05DEU004.037 And because he loved thy fathers, therefore he chose their seed after them, and brought thee out in his sight with his mighty power out of Egypt; %%% Era kubanga yayagala bajjajja bo, kyeyava alonda ezzadde lyabwe eriddawo, n'akuggya mu Misiri ye ng'abeera naawe olw'obuyinza bwe obungi; 05DEU004.038 To drive out nations from before thee greater and mightier than thou art, to bring thee in, to give thee their land for an inheritance, as it is this day. %%% okugoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n'amaanyi, okukuyingiza ggwe, okukuwa ensi yaabwe okuba obutaka, nga leero. 05DEU004.039 Know therefore this day, and consider it in thine heart, that the LORD he is God in heaven above, and upon the earth beneath: there is none else. %%% Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi: tewali mulala. 05DEU004.040 Thou shalt keep therefore his statutes, and his commandments, which I command thee this day, that it may go well with thee, and with thy children after thee, and that thou mayest prolong thy days upon the earth, which the LORD thy God giveth thee, for ever. %%% Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero, olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era omale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa, emirembe gyonna. 05DEU004.041 Then Moses severed three cities on this side Jordan toward the sunrising; %%% Awo Musa n'alyoka ayawula ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba; 05DEU004.042 That the slayer might flee thither, which should kill his neighbour unawares, and hated him not in times past; and that fleeing unto one of these cities he might live: %%% omussi addukirenga omwo, anattanga munne ng'ataniddwa; so nga tamukyawanga; addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo abeerenga omulamu; 05DEU004.043 Namely, Bezer in the wilderness, in the plain country, of the Reubenites; and Ramoth in Gilead, of the Gadites; and Golan in Bashan, of the Manassites. %%% Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky'Ababalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky'Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky'Abamanase. 05DEU004.044 And this is the law which Moses set before the children of Israel: %%% Era gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g'abaana ba Isiraeri: 05DEU004.045 These are the testimonies, and the statutes, and the judgments, which Moses spake unto the children of Israel, after they came forth out of Egypt, %%% buno bwe bujulirwa n'amateeka n'emisango Musa bye yabuulira abaana ba Isiraeri bwe baava mu Misiri; 05DEU004.046 On this side Jordan, in the valley over against Bethpeor, in the land of Sihon king of the Amorites, who dwelt at Heshbon, whom Moses and the children of Israel smote, after they were come forth out of Egypt: %%% emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi ya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baava mu Misiri: 05DEU004.047 And they possessed his land, and the land of Og king of Bashan, two kings of the Amorites, which were on this side Jordan toward the sunrising; %%% ne balya ensi ye, n'ensi ya Ogi kabaka We Basani, bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabanga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba; 05DEU004.048 From Aroer, which is by the bank of the river Arnon, even unto mount Sion, which is Hermon, %%% okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kye Alunoni, okutuusa ku lusozi Sayuuni (oyo Ye Kerumooni), 05DEU004.049 And all the plain on this side Jordan eastward, even unto the sea of the plain, under the springs of Pisgah. %%% ne Alaba yonna emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuusa ku nnyanja ya Alaba, awali entunnumba za Pisuga. 05DEU005.001 And Moses called all Israel, and said unto them, Hear, O Israel, the statutes and judgments which I speak in your ears this day, that ye may learn them, and keep, and do them. %%% Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, amateeka n'emisango bye njogera mu matu gammwe leero, mubiyige, mubikwatenga okubikola. 05DEU005.002 The LORD our God made a covenant with us in Horeb. %%% Mukama Katonda waffe yalagaanira endagaaao naffe ku Kolebu. 05DEU005.003 The LORD made not this covenant with our fathers, but with us, even us, who are all of us here alive this day. %%% Mukama teyalagaana ndagaano eyo ne bajjajja baffe, naye naffe ffe, abali wano fenna nga balamu leero. 05DEU005.004 The LORD talked with you face to face in the mount out of the midst of the fire, %%% Mukama Yayogera nammwe nga mulabagana n'amaaso ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro, 05DEU005.005 (I stood between the LORD and you at that time, to shew you the word of the LORD: for ye were afraid by reason of the fire, and went not up into the mount;) saying, %%% (nnayimirira wakati wa Mukama nammwe mu biro ebyo, okubalaga ekigambo kya Mukama: kubaaga mwali mutidde olw'omuliro ne mutalinnya ku lusozi;) ng'ayogera nti 05DEU005.006 I am the LORD thy God, which brought thee out of the land of Egypt, from the house of bondage. %%% Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu. 05DEU005.007 Thou shalt have none other gods before me. %%% Tobanga na bakatonda balala we ndi. 05DEU005.008 Thou shalt not make thee any graven image, or any likeness of any thing that is in heaven above, or that is in the earth beneath, or that is in the waters beneath the earth: %%% Teweekoleranga kifaananyi kyole, ekifaananyi ky'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka: 05DEU005.009 Thou shalt not bow down thyself unto them, nor serve them: for I the LORD thy God am a jealous God, visiting the iniquity of the fathers upon the children unto the third and fourth generation of them that hate me, %%% tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baaaa obubi bwa bajjajja baabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa; 05DEU005.010 And shewing mercy unto thousands of them that love me and keep my commandments. %%% era addiramu abantu nkumi na nkumi ku abo abanjagala, abeekuuma amateeka gange. 05DEU005.011 Thou shalt not take the name of the LORD thy God in vain: for the LORD will not hold him guiltless that taketh his name in vain. %%% Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talimutowooza nga taliiko musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye. 05DEU005.012 Keep the sabbath day to sanctify it, as the LORD thy God hath commanded thee. %%% Okwatanga olunaku olwa ssabbiiti okulutukuza, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. 05DEU005.013 Six days thou shalt labour, and do all thy work: %%% Ennaku omukaaga okolanga n'omala emirimu gyo gyonna: 05DEU005.014 But the seventh day is the sabbath of the LORD thy God: in it thou shalt not do any work, thou, nor thy son, nor thy daughter, nor thy manservant, nor thy maidservant, nor thine ox, nor thine ass, nor any of thy cattle, nor thy stranger that is within thy gates; that thy manservant and thy maidservant may rest as well as thou. %%% naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo; newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga wo ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga: era nga naawe. 05DEU005.015 And remember that thou wast a servant in the land of Egypt, and that the LORD thy God brought thee out thence through a mighty hand and by a stretched out arm: therefore the LORD thy God commanded thee to keep the sabbath day. %%% Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa: Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa ssabbiiti. 05DEU005.016 Honour thy father and thy mother, as the LORD thy God hath commanded thee; that thy days may be prolonged, and that it may go well with thee, in the land which the LORD thy God giveth thee. %%% Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi ku nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa. 05DEU005.017 Thou shalt not kill. %%% Tottanga. 05DEU005.018 Neither shalt thou commit adultery. %%% So toyendanga: 05DEU005.019 Neither shalt thou steal. %%% So tobbanga. 05DEU005.020 Neither shalt thou bear false witness against thy neighbour. %%% So towaayirizanga muntu munno: 05DEU005.021 Neither shalt thou desire thy neighbour's wife, neither shalt thou covet thy neighbour's house, his field, or his manservant, or his maidservant, his ox, or his ass, or any thing that is thy neighbour's. %%% So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno. 05DEU005.022 These words the LORD spake unto all your assembly in the mount out of the midst of the fire, of the cloud, and of the thick darkness, with a great voice: and he added no more. And he wrote them in two tables of stone, and delivered them unto me. %%% Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene: n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'agampa: 05DEU005.023 And it came to pass, when ye heard the voice out of the midst of the darkness, (for the mountain did burn with fire,) that ye came near unto me, even all the heads of your tribes, and your elders; %%% Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera, abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe; 05DEU005.024 And ye said, Behold, the LORD our God hath shewed us his glory and his greatness, and we have heard his voice out of the midst of the fire: we have seen this day that God doth talk with man, and he liveth. %%% ne mwogera nti Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro: wakati: tulabye leero nga Katonda ayogera n'omuntu n'aba mulamu: 05DEU005.025 Now therefore why should we die? for this great fire will consume us: if we hear the voice of the LORD our God any more, then we shall die. %%% Kale kaakano twandifiiridde ki? kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza: bwe tunaawulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tunaafa. 05DEU005.026 For who is there of all flesh, that hath heard the voice of the living God speaking out of the midst of the fire, as we have, and lived? %%% Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu? 05DEU005.027 Go thou near, and hear all that the LORD our God shall say: and speak thou unto us all that the LORD our God shall speak unto thee; and we will hear it, and do it. %%% Ggwe sembera owulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaayogera: olyoke otubuulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaakubuulira; naffe tulibiwulira ne tubikola. 05DEU005.028 And the LORD heard the voice of your words, when ye spake unto me; and the LORD said unto me, I have heard the voice of the words of this people, which they have spoken unto thee: they have well said all that they have spoken. %%% Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe bwe mwayogera nange; Mukama n'aŋŋamba nti Mpulidde eddoboozi ly'ebigambo by'abantu bano, bye bakubuulidde: boogedde bulungi byonna bye bagambye. 05DEU005.029 O that there were such an heart in them, that they would fear me, and keep all my commandments always, that it might be well with them, and with their children for ever! %%% Singa mulimu omutima mu bo ogufaanana bwe guti n'okutya bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabe ebirungi n'abaana baabwe emirembe gyonna 05DEU005.030 Go say to them, Get you into your tents again. %%% Genda obagambe nti Muddeeyo mu weema zammwe. 05DEU005.031 But as for thee, stand thou here by me, and I will speak unto thee all the commandments, and the statutes, and the judgments, which thou shalt teach them, that they may do them in the land which I give them to possess it. %%% Naye ggwe, yimirira wano we ndi; nange n'akubuulira ekiragiro kyonna n'amateeka n'emisango by'olibayigiriza, balyoke babikolenga mu nsi gye mbawa okugirya. 05DEU005.032 Ye shall observe to do therefore as the LORD your God hath commanded you: ye shall not turn aside to the right hand or to the left. %%% Kale munaakwatanga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira: temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono. 05DEU005.033 Ye shall walk in all the ways which the LORD your God hath commanded you, that ye may live, and that it may be well with you, and that ye may prolong your days in the land which ye shall possess. %%% Munaatambuliranga mu kkubo lyonna Mukama Katonda wammwe lye yabalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era mumale ennaku nnyingi mu nsi gye mulirya. 05DEU006.001 Now these are the commandments, the statutes, and the judgments, which the LORD your God commanded to teach you, that ye might do them in the land whither ye go to possess it: %%% Kale kino kye kiragiro, amateeka n'emisango, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya: 05DEU006.002 That thou mightest fear the LORD thy God, to keep all his statutes and his commandments, which I command thee, thou, and thy son, and thy son's son, all the days of thy life; and that thy days may be prolonged. %%% otyenga Mukama Katonda wo, okwekuumanga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye nkulagira ggwe n'omwana wo n'omuzzukulu wo, ennaku zonna ez'obulamu bwo; era olyoke owangaale ennaku nnyingi. 05DEU006.003 Hear therefore, O Israel, and observe to do it; that it may be well with thee, and that ye may increase mightily, as the LORD God of thy fathers hath promised thee, in the land that floweth with milk and honey. %%% Kale wulira, ggwe Isiraeri, okwatenga okukola kutyo; olabenga ebirungi, era mwale nnyo, nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakusuubiza, mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki. 05DEU006.004 Hear, O Israel: The LORD our God is one LORD: %%% Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu: 05DEU006.005 And thou shalt love the LORD thy God with all thine heart, and with all thy soul, and with all thy might. %%% era onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna. 05DEU006.006 And these words, which I command thee this day, shall be in thine heart: %%% Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: 05DEU006.007 And thou shalt teach them diligently unto thy children, and shalt talk of them when thou sittest in thine house, and when thou walkest by the way, and when thou liest down, and when thou risest up. %%% era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga: 05DEU006.008 And thou shalt bind them for a sign upon thine hand, and they shall be as frontlets between thine eyes. %%% Era onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo, era binaabanga eby'oku kyenyi wakati w'amaaso go. 05DEU006.009 And thou shalt write them upon the posts of thy house, and on thy gates. %%% Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo, ne ku nzigi zo. 05DEU006.010 And it shall be, when the LORD thy God shall have brought thee into the land which he sware unto thy fathers, to Abraham, to Isaac, and to Jacob, to give thee great and goodly cities, which thou buildedst not, %%% Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba, 05DEU006.011 And houses full of all good things, which thou filledst not, and wells digged, which thou diggedst not, vineyards and olive trees, which thou plantedst not; when thou shalt have eaten and be full; %%% n'ennyumba ezijjula ebirungi byonna, z'otajjuza, n'ebidiba ebyasimibwa, by'otaasima, ensuku ez'emizabibu n'emizeyituuni gy'otaasimba, n'olya n'okkuta; 05DEU006.012 Then beware lest thou forget the LORD, which brought thee forth out of the land of Egypt, from the house of bondage. %%% n'olyoka weekuuma olemenga okwerabira Mukama: eyakuggya mu nsi y'e Misiri; mu nnyumba y'obuddu. 05DEU006.013 Thou shalt fear the LORD thy God, and serve him, and shalt swear by his name. %%% Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga. 05DEU006.014 Ye shall not go after other gods, of the gods of the people which are round about you; %%% Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde; 05DEU006.015 (For the LORD thy God is a jealous God among you) lest the anger of the LORD thy God be kindled against thee, and destroy thee from off the face of the earth. %%% kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wammwe ye Katonda ow'obuggya; obusungu bwa Mukama Katonda wo buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza okukuggya ku maaso g'ensi. 05DEU006.016 Ye shall not tempt the LORD your God, as ye tempted him in Massah. %%% Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa. 05DEU006.017 Ye shall diligently keep the commandments of the LORD your God, and his testimonies, and his statutes, which he hath commanded thee. %%% Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza; n'amateeka ge, ge yakulagira: 05DEU006.018 And thou shalt do that which is right and good in the sight of the LORD: that it may be well with thee, and that thou mayest go in and possess the good land which the LORD sware unto thy fathers, %%% Era onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekituukirivu era ekirungi: olyoke olabenga ebirungi, era oyingire olye ensi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, 05DEU006.019 To cast out all thine enemies from before thee, as the LORD hath spoken. %%% okugobamu abalabe bo bonna mu maaso go, nga Mukama bwe yayogera. 05DEU006.020 And when thy son asketh thee in time to come, saying, What mean the testimonies, and the statutes, and the judgments, which the LORD our God hath commanded you? %%% Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti Ebyo bye yategeeza, n'amateeka, n’emisango Mukama Katonda waffe bye yabalagira; amakulu gaabyo ki? 05DEU006.021 Then thou shalt say unto thy son, We were Pharaoh's bondmen in Egypt; and the LORD brought us out of Egypt with a mighty hand: %%% n'olyoka ogamba omwana wo, nti Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n’atuggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi: 05DEU006.022 And the LORD shewed signs and wonders, great and sore, upon Egypt, upon Pharaoh, and upon all his household, before our eyes: %%% era Mukama n’alaga obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, mu maaso gaffe: 05DEU006.023 And he brought us out from thence, that he might bring us in, to give us the land which he sware unto our fathers. %%% n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajja baffe. 05DEU006.024 And the LORD commanded us to do all these statutes, to fear the LORD our God, for our good always, that he might preserve us alive, as it is at this day. %%% Era Mukama n'atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero. 05DEU006.025 And it shall be our righteousness, if we observe to do all these commandments before the LORD our God, as he hath commanded us. %%% Era kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe nga bwe yatulagira. 05DEU007.001 When the LORD thy God shall bring thee into the land whither thou goest to possess it, and hath cast out many nations before thee, the Hittites, and the Girgashites, and the Amorites, and the Canaanites, and the Perizzites, and the Hivites, and the Jebusites, seven nations greater and mightier than thou; %%% Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogenda okulya, n'asimbula mu maaso go amawanga mangi, Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omwamoli, n'Omukanani; n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, amawanga musanvu agakusinga obukulu n'amaanyi; 05DEU007.002 And when the LORD thy God shall deliver them before thee; thou shalt smite them, and utterly destroy them; thou shalt make no covenant with them, nor shew mercy unto them: %%% era Mukama Katonda wo bw'alibagabula mu maaso go, naawe n'obatta; n'olyoka obazikiririza ddala; tolagaananga nabo ndagaano yonna, so tobalaganga kisa: 05DEU007.003 Neither shalt thou make marriages with them; thy daughter thou shalt not give unto his son, nor his daughter shalt thou take unto thy son. %%% so tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo. 05DEU007.004 For they will turn away thy son from following me, that they may serve other gods: so will the anger of the LORD be kindled against you, and destroy thee suddenly. %%% Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu. 05DEU007.005 But thus shall ye deal with them; ye shall destroy their altars, and break down their images, and cut down their groves, and burn their graven images with fire. %%% Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, mu naabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro. 05DEU007.006 For thou art an holy people unto the LORD thy God: the LORD thy God hath chosen thee to be a special people unto himself, above all people that are upon the face of the earth. %%% Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi. 05DEU007.007 The LORD did not set his love upon you, nor choose you, because ye were more in number than any people; for ye were the fewest of all people: %%% Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna: 05DEU007.008 But because the LORD loved you, and because he would keep the oath which he had sworn unto your fathers, hath the LORD brought you out with a mighty hand, and redeemed you out of the house of bondmen, from the hand of Pharaoh king of Egypt. %%% naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n'engalo ez'amaanyi, n'abanunula mu nnyumba y'obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri. 05DEU007.009 Know therefore that the LORD thy God, he is God, the faithful God, which keepeth covenant and mercy with them that love him and keep his commandments to a thousand generations; %%% Kale manya nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi; 05DEU007.010 And repayeth them that hate him to their face, to destroy them: he will not be slack to him that hateth him, he will repay him to his face. %%% asasula abo abamukyawa ng'alabagana n'amaaso, okubazikiriza: taddirirenga eri oyo amukyawa, naye anaamusasulanga ng'alabagana n'amaaso. 05DEU007.011 Thou shalt therefore keep the commandments, and the statutes, and the judgments, which I command thee this day, to do them. %%% Kale oneekuumanga ekiragiro ekyo, n'amateeka, n'emisango, bye nkulagira leero, okubikolanga. 05DEU007.012 Wherefore it shall come to pass, if ye hearken to these judgments, and keep, and do them, that the LORD thy God shall keep unto thee the covenant and the mercy which he sware unto thy fathers: %%% Awo olulituuka kubanga muwulira emisango gino; ne mugikwata, ne mugikola; Mukama Katonda wo anaakukwatiranga endagaano n'okusaasira bye yalayirira bajjajja bo: 05DEU007.013 And he will love thee, and bless thee, and multiply thee: he will also bless the fruit of thy womb, and the fruit of thy land, thy corn, and thy wine, and thine oil, the increase of thy kine, and the flocks of thy sheep, in the land which he sware unto thy fathers to give thee. %%% era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa. 05DEU007.014 Thou shalt be blessed above all people: there shall not be male or female barren among you, or among your cattle. %%% Onoobanga n'omukisa okusinga amawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakubadde mu bisibo byo. 05DEU007.015 And the LORD will take away from thee all sickness, and will put none of the evil diseases of Egypt, which thou knowest, upon thee; but will lay them upon all them that hate thee. %%% Era Mukama anaakuggyangako obulwadde bwonna; so taakussengako n’emu ku ndwadde embi ez'e Misiri, z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa. 05DEU007.016 And thou shalt consume all the people which the LORD thy God shall deliver thee; thine eye shall have no pity upon them: neither shalt thou serve their gods; for that will be a snare unto thee. %%% Era onoozikirizanga amawanga gonna Mukama Katonda wo g'anaakugabulanga; amaaso go tegaabasaasirenga: so toweerezanga bakatonda baabwe; kubanga ekyo kinaabanga kyambika gy'oli. 05DEU007.017 If thou shalt say in thine heart, These nations are more than I; how can I dispossess them? %%% Bw'onooyogeranga m mutima gwo nti Amawanga gano gansinga obungi; nnyinza ntya okubanyaga? 05DEU007.018 Thou shalt not be afraid of them: but shalt well remember what the LORD thy God did unto Pharaoh, and unto all Egypt; %%% tobatyanga; onojjukiriranga ddala Mukama Katonda wo bwe yakola Falaawo, ne Misiri yonna; 05DEU007.019 The great temptations which thine eyes saw, and the signs, and the wonders, and the mighty hand, and the stretched out arm, whereby the LORD thy God brought thee out: so shall the LORD thy God do unto all the people of whom thou art afraid. %%% okukemebwa okunene amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero, n’engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa Mukama Katonda wo bye yakuggisaamu: bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya. 05DEU007.020 Moreover the LORD thy God will send the hornet among them, until they that are left, and hide themselves from thee, be destroyed. %%% Era Mukama Katonda wo anaatumanga mu bo ennumba okutuusa abo abalisigalawo ne beekweka lwe balizikirira mu maaso ge. 05DEU007.021 Thou shalt not be affrighted at them: for the LORD thy God is among you, a mighty God and terrible. %%% Tobatekemukiranga: kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wo, Katonda omukulu era ow'entiisa. 05DEU007.022 And the LORD thy God will put out those nations before thee by little and little: thou mayest not consume them at once, lest the beasts of the field increase upon thee. %%% Era Mukama Katonda wo anaasimbulanga amawanga gali mu maaso go kinnalimu; toliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez'omu nsiko zireme okweyongera okukuyinga. 05DEU007.023 But the LORD thy God shall deliver them unto thee, and shall destroy them with a mighty destruction, until they be destroyed. %%% Naye Mukama Katonda wo anaabagabulanga mu maaso go; era anaabeeraliikirizanga okweraliikirira okungi, okutuusa lwe balizikirira. 05DEU007.024 And he shall deliver their kings into thine hand, and thou shalt destroy their name from under heaven: there shall no man be able to stand before thee, until thou have destroyed them. %%% Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w'eggulu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw'olibazikiriza. 05DEU007.025 The graven images of their gods shall ye burn with fire: thou shalt not desire the silver or gold that is on them, nor take it unto thee, lest thou be snared therein: for it is an abomination to the LORD thy God. %%% Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro: teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu ebiriko, so teweetwaliranga, oleme okutegebwa mu ebyo: kubanga mizizo eri Mukama Katonda wo: 05DEU007.026 Neither shalt thou bring an abomination into thine house, lest thou be a cursed thing like it: but thou shalt utterly detest it, and thou shalt utterly abhor it; for it is a cursed thing. %%% so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n'ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kiatu ekyakolimirwa. 05DEU008.001 All the commandments which I command thee this day shall ye observe to do, that ye may live, and multiply, and go in and possess the land which the LORD sware unto your fathers. %%% Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe. 05DEU008.002 And thou shalt remember all the way which the LORD thy God led thee these forty years in the wilderness, to humble thee, and to prove thee, to know what was in thine heart, whether thou wouldest keep his commandments, or no. %%% Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo. 05DEU008.003 And he humbled thee, and suffered thee to hunger, and fed thee with manna, which thou knewest not, neither did thy fathers know; that he might make thee know that man doth not live by bread only, but by every word that proceedeth out of the mouth of the LORD doth man live. %%% N'akutoowaza, n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu. 05DEU008.004 Thy raiment waxed not old upon thee, neither did thy foot swell, these forty years. %%% Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n'ekigere kyo tekyazimbanga, emyaka gino amakumi ana. 05DEU008.005 Thou shalt also consider in thine heart, that, as a man chasteneth his son, so the LORD thy God chasteneth thee. %%% Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng'omuntu nga bw'akangavvula omwana we, bw'atyo Mukama Katonda wo bw'akukangavvula ggwe. 05DEU008.006 Therefore thou shalt keep the commandments of the LORD thy God, to walk in his ways, and to fear him. %%% Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga. 05DEU008.007 For the LORD thy God bringeth thee into a good land, a land of brooks of water, of fountains and depths that spring out of valleys and hills; %%% Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey'emigga gy'amazzi, ey'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi; 05DEU008.008 A land of wheat, and barley, and vines, and fig trees, and pomegranates; a land of oil olive, and honey; %%% ensi ey'eŋŋaano ne sayiri; n'emizabbibu n'emitiini n’emikomamawanga; 05DEU008.009 A land wherein thou shalt eat bread without scarceness, thou shalt not lack any thing in it; a land whose stones are iron, and out of whose hills thou mayest dig brass. %%% ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi zaayo oyinza okusima ebikomo. 05DEU008.010 When thou hast eaten and art full, then thou shalt bless the LORD thy God for the good land which he hath given thee. %%% Era onoolyaaga n'okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw'ensi ennungi gye yakuwa. 05DEU008.011 Beware that thou forget not the LORD thy God, in not keeping his commandments, and his judgments, and his statutes, which I command thee this day: %%% Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteekuumanga biragiro bye n'emisango gye n'amateeka ge bye nkulagira leero: 05DEU008.012 Lest when thou hast eaten and art full, and hast built goodly houses, and dwelt therein; %%% bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo; 05DEU008.013 And when thy herds and thy flocks multiply, and thy silver and thy gold is multiplied, and all that thou hast is multiplied; %%% era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by'olina nga byaze; 05DEU008.014 Then thine heart be lifted up, and thou forget the LORD thy God, which brought thee forth out of the land of Egypt, from the house of bondage; %%% kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu; 05DEU008.015 Who led thee through that great and terrible wilderness, wherein were fiery serpents, and scorpions, and drought, where there was no water; who brought thee forth water out of the rock of flint; %%% eyakuyisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota egy'omuliro n’enjaba ez'obusagwa, n'ettaka erirumwa ennyonta awatali mazzi; eyakuggira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale; 05DEU008.016 Who fed thee in the wilderness with manna, which thy fathers knew not, that he might humble thee, and that he might prove thee, to do thee good at thy latter end; %%% eyakuliisiza mu ddungu emmaanu, bajjajja bo gye batamanyanga; akutoowaze, akukeme, akukole bulungi ku nkomerero yo: 05DEU008.017 And thou say in thine heart, My power and the might of mine hand hath gotten me this wealth. %%% era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g'omukono gwange bye binfunidde obugagga buno. 05DEU008.018 But thou shalt remember the LORD thy God: for it is he that giveth thee power to get wealth, that he may establish his covenant which he sware unto thy fathers, as it is this day. %%% Naye onojjukiraaga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero. 05DEU008.019 And it shall be, if thou do at all forget the LORD thy God, and walk after other gods, and serve them, and worship them, I testify against you this day that ye shall surely perish. %%% Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira. 05DEU008.020 As the nations which the LORD destroyeth before your face, so shall ye perish; because ye would not be obedient unto the voice of the LORD your God. %%% Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe. 05DEU009.001 Hear, O Israel: Thou art to pass over Jordan this day, to go in to possess nations greater and mightier than thyself, cities great and fenced up to heaven, %%% Wulira, ggwe Isiraeri: ogenda okusomoka Yoludaani leero, okuyingira okulya amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu, 05DEU009.002 A people great and tall, the children of the Anakims, whom thou knowest, and of whom thou hast heard say, Who can stand before the children of Anak! %%% abantu abanene abawanvu, abaana b'Anaki, b'omanyi, era be wawulirako nga bagamba nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso g'abaana ba Anaki? 05DEU009.003 Understand therefore this day, that the LORD thy God is he which goeth over before thee; as a consuming fire he shall destroy them, and he shall bring them down before thy face: so shalt thou drive them out, and destroy them quickly, as the LORD hath said unto thee. %%% Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obazikiriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba. 05DEU009.004 Speak not thou in thine heart, after that the LORD thy God hath cast them out from before thee, saying, For my righteousness the LORD hath brought me in to possess this land: but for the wickedness of these nations the LORD doth drive them out from before thee. %%% Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nu Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyingiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go. 05DEU009.005 Not for thy righteousness, or for the uprightness of thine heart, dost thou go to possess their land: but for the wickedness of these nations the LORD thy God doth drive them out from before thee, and that he may perform the word which the LORD sware unto thy fathers, Abraham, Isaac, and Jacob. %%% Si lwa butuukirivu bwo so si lwa bugolokofu bwa mutima gwo, kyova oyingira okulya ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago Mukama Katonda wo kyava agagoba mu maaso go, era alyoke anyweze ekigambo Mukama kye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. 05DEU009.006 Understand therefore, that the LORD thy God giveth thee not this good land to possess it for thy righteousness; for thou art a stiffnecked people. %%% Kale manya nga Mukama Katonda wo takuwa nsi eno nnungi okugirya lwa butuukirivu bwo; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu. 05DEU009.007 Remember, and forget not, how thou provokedst the LORD thy God to wrath in the wilderness: from the day that thou didst depart out of the land of Egypt, until ye came unto this place, ye have been rebellious against the LORD. %%% Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; mujeemera Mukama. 05DEU009.008 Also in Horeb ye provoked the LORD to wrath, so that the LORD was angry with you to have destroyed you. %%% Era ne ku Kolebu mwasunguwaza Mukama, Mukama n'abanyiigira okubazikiriza. 05DEU009.009 When I was gone up into the mount to receive the tables of stone, even the tables of the covenant which the LORD made with you, then I abode in the mount forty days and forty nights, I neither did eat bread nor drink water: %%% Bwe nnali nga mmaze okulinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, ne ndyoka mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi. 05DEU009.010 And the LORD delivered unto me two tables of stone written with the finger of God; and on them was written according to all the words, which the LORD spake with you in the mount out of the midst of the fire in the day of the assembly. %%% Mukama n’ampa ebipande bibiri eby'amayinja ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda; era ku byo kwawandiikibwa ng'ebigambo byonna bwe biri, Mukama bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako. 05DEU009.011 And it came to pass at the end of forty days and forty nights, that the LORD gave me the two tables of stone, even the tables of the covenant. %%% Awo olwatuuka ennaku amakumi ana bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano. 05DEU009.012 And the LORD said unto me, Arise, get thee down quickly from hence; for thy people which thou hast brought forth out of Egypt have corrupted themselves; they are quickly turned aside out of the way which I commanded them; they have made them a molten image. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaanaayi ekisaanuuse. 05DEU009.013 Furthermore the LORD spake unto me, saying, I have seen this people, and, behold, it is a stiffnecked people: %%% Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: 05DEU009.014 Let me alone, that I may destroy them, and blot out their name from under heaven: and I will make of thee a nation mightier and greater than they. %%% ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe wansi w'eggulu: era ndifuula ggwe eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu. 05DEU009.015 So I turned and came down from the mount, and the mount burned with fire: and the two tables of the covenant were in my two hands. %%% Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, era olusozi nga lwaka omuliro: n’ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi. 05DEU009.016 And I looked, and, behold, ye had sinned against the LORD your God, and had made you a molten calf: ye had turned aside quickly out of the way which the LORD had commanded you. %%% Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; mwali mumaze okwekolera ennyana ensaanuuse: mwali mumaze okukyama amangu okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira. 05DEU009.017 And I took the two tables, and cast them out of my two hands, and brake them before your eyes. %%% Ne nkwata ebipande byombi, ne mbisuula mu mikono gyange gyombi, ne mbimenya mu maaso gammwe. 05DEU009.018 And I fell down before the LORD, as at the first, forty days and forty nights: I did neither eat bread, nor drink water, because of all your sins which ye sinned, in doing wickedly in the sight of the LORD, to provoke him to anger. %%% Ne nvuunamira mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi; olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi okumusunguwaza. 05DEU009.019 For I was afraid of the anger and hot displeasure, wherewith the LORD was wroth against you to destroy you. But the LORD hearkened unto me at that time also. %%% Kubanga natya obusungu n'ekiruyi, Mukama bwe yali abasunguwalidde okubazikiriza. Naye Mukama n’ampulira n'omulundi guli. 05DEU009.020 And the LORD was very angry with Aaron to have destroyed him: and I prayed for Aaron also the same time. %%% Mukama n’asunguwalira nnyo Alooni okumuzikiriza: era ne nsabira ne Alooni mu biro ebyo. 05DEU009.021 And I took your sin, the calf which ye had made, and burnt it with fire, and stamped it, and ground it very small, even until it was as small as dust: and I cast the dust thereof into the brook that descended out of the mount. %%% Ne nzirira ekibi kyammwe, ennyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, nga ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafaanana ng'enfuufu: ne nsuula enfuufu yaayo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi. 05DEU009.022 And at Taberah, and at Massah, and at Kibrothhattaavah, ye provoked the LORD to wrath. %%% Era e Tabera, n’e Masa, n'e Kiberosukataava mwasunguwalizaayo Mukama. 05DEU009.023 Likewise when the LORD sent you from Kadeshbarnea, saying, Go up and possess the land which I have given you; then ye rebelled against the commandment of the LORD your God, and ye believed him not, nor hearkened to his voice. %%% Awo Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti Mwambuke mulye ensi gye mbawadde; ne mulyoka mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye. 05DEU009.024 Ye have been rebellious against the LORD from the day that I knew you. %%% Mujeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nnabamanya. 05DEU009.025 Thus I fell down before the LORD forty days and forty nights, as I fell down at the first; because the LORD had said he would destroy you. %%% Awo ne nvuunamira mu maaso ga Mukama ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ze nnavuunamirira; kubanga Mukama yali ayogedde ng'agenda okubazikiriza. 05DEU009.026 I prayed therefore unto the LORD, and said, O Lord GOD, destroy not thy people and thine inheritance, which thou hast redeemed through thy greatness, which thou hast brought forth out of Egypt with a mighty hand. %%% Ne nsaba Mukama ne njogera nti Ai Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo na busika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi. 05DEU009.027 Remember thy servants, Abraham, Isaac, and Jacob; look not unto the stubbornness of this people, nor to their wickedness, nor to their sin: %%% Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe: 05DEU009.028 Lest the land whence thou broughtest us out say, Because the LORD was not able to bring them into the land which he promised them, and because he hated them, he hath brought them out to slay them in the wilderness. %%% ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti Kubanga Mukama teyayinza kubaleeta: mu nsi gye yabasuubiza; era kubanga yabakyawa, kyeyava abafulumya mu ddungu okubatta. 05DEU009.029 Yet they are thy people and thine inheritance, which thou broughtest out by thy mighty power and by thy stretched out arm. %%% Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggyamu n'obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogwagololwa. 05DEU010.001 At that time the LORD said unto me, Hew thee two tables of stone like unto the first, and come up unto me into the mount, and make thee an ark of wood. %%% Mu biro ebyo Mukama n'aŋŋamba nti Weetemere ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, weekolere essanduuko ey'omuti. 05DEU010.002 And I will write on the tables the words that were in the first tables which thou brakest, and thou shalt put them in the ark. %%% Era nnaawandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye bye wamenya, era onoobiteeka mu ssanduuko. 05DEU010.003 And I made an ark of shittim wood, and hewed two tables of stone like unto the first, and went up into the mount, having the two tables in mine hand. %%% Awo ne nkola essanduuko ey'omuti gwa sita, ne ntema ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange. 05DEU010.004 And he wrote on the tables, according to the first writing, the ten commandments, which the LORD spake unto you in the mount out of the midst of the fire in the day of the assembly: and the LORD gave them unto me. %%% N'awandiika ku bipande, ng'okuwandiika okw'olubereberye bwe kwali, amateeka ekkumi, Mukama ge yababuulira ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako Mukama n'abimpa. 05DEU010.005 And I turned myself and came down from the mount, and put the tables in the ark which I had made; and there they be, as the LORD commanded me. %%% Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko, gye nnali nkoze; era biri omwo, nga Mukama bwe yandagira. 05DEU010.006 And the children of Israel took their journey from Beeroth of the children of Jaakan to Mosera: there Aaron died, and there he was buried; and Eleazar his son ministered in the priest's office in his stead. %%% (Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera: Alooni n'afiira eyo, era eye gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'aweerezanga mu bwakabona mu kifo kye. 05DEU010.007 From thence they journeyed unto Gudgodah; and from Gudgodah to Jotbath, a land of rivers of waters. %%% Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda; ne bava e Gudugoda ne batambula okutuuka e Yotubasa, ensi ey'emigga egy'amazzi. 05DEU010.008 At that time the LORD separated the tribe of Levi, to bear the ark of the covenant of the LORD, to stand before the LORD to minister unto him, and to bless in his name, unto this day. %%% Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okwebazanga erinnya lye, ne leero. 05DEU010.009 Wherefore Levi hath no part nor inheritance with his brethren; the LORD is his inheritance, according as the LORD thy God promised him. %%% Leevi kyava alema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda be; Mukama bwe busika bwe, nga Mukama Katonda we bwe yamugamba.) 05DEU010.010 And I stayed in the mount, according to the first time, forty days and forty nights; and the LORD hearkened unto me at that time also, and the LORD would not destroy thee. %%% Ne mmala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ku lusozi, ng'omulundi ogw'olubereberye: Mukama n'ampulira n'omulundi ogwo; Mukama nga tagenda kukuzikiriza. 05DEU010.011 And the LORD said unto me, Arise, take thy journey before the people, that they may go in and possess the land, which I sware unto their fathers to give unto them. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka, otambule ku lugendo lwo ng'okulembera abantu; era baliyingira balirya ensi gye nnalayirira bajjajja baabwe okubawa: 05DEU010.012 And now, Israel, what doth the LORD thy God require of thee, but to fear the LORD thy God, to walk in all his ways, and to love him, and to serve the LORD thy God with all thy heart and with all thy soul, %%% Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, 05DEU010.013 To keep the commandments of the LORD, and his statutes, which I command thee this day for thy good? %%% okwekuumanga ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge, bwe nkulagira leero olw'obulungi bwo? 05DEU010.014 Behold, the heaven and the heaven of heavens is the LORD's thy God, the earth also, with all that therein is. %%% Laba, Mukama Katonda wo ye nnannyini ggulu, n'eggulu erya waggulu, ensi era n'ebigirimu byonna. 05DEU010.015 Only the LORD had a delight in thy fathers to love them, and he chose their seed after them, even you above all people, as it is this day. %%% Mukama yasanyukira busanyukizi bajjajja be okubaagala, n'alonda ezzadde lyabwe eryaddawo, ye mmwe okusinga amawanga gonna, nga leero. 05DEU010.016 Circumcise therefore the foreskin of your heart, and be no more stiffnecked. %%% Kale mukomole ekikuta ky'omutima gwammwe, so temubanga nate ba nsingo nkakanyavu. 05DEU010.017 For the LORD your God is God of gods, and Lord of lords, a great God, a mighty, and a terrible, which regardeth not persons, nor taketh reward: %%% Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda era Mukama w'abaami, Katonda omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, atatya maaso ga bantu, so talya nguzi. 05DEU010.018 He doth execute the judgment of the fatherless and widow, and loveth the stranger, in giving him food and raiment. %%% Asalira omusango mulekwa ne nnamwandu, era ayagala munnaggwanga, ng'amuwa eby'okulya n'eby'okwambala. 05DEU010.019 Love ye therefore the stranger: for ye were strangers in the land of Egypt. %%% Kale mwagalenga munnaggwanga: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y'e Misiri. 05DEU010.020 Thou shalt fear the LORD thy God; him shalt thou serve, and to him shalt thou cleave, and swear by his name. %%% Onootyanga Mukama Katonda wo; eyo gw'onooweerezanga; era eyo gw'oneegattanga naye, n'erinnya lye ly'onoolayiranga. 05DEU010.021 He is thy praise, and he is thy God, that hath done for thee these great and terrible things, which thine eyes have seen. %%% Oyo lye ttendo lyo, era ye Katonda wo, eyakukolera ebyo ebikulu era eby'entiisa, amaaso go bye gaalaba. 05DEU010.022 Thy fathers went down into Egypt with threescore and ten persons; and now the LORD thy God hath made thee as the stars of heaven for multitude. %%% Bajjajja bo baaserengeta mu Misiri nga bali abantu nsanvu; ne kaakano Mukama Katonda wo akufudde ng'emmuyeenye ez'omu ggulu olw'obungi. 05DEU011.001 Therefore thou shalt love the LORD thy God, and keep his charge, and his statutes, and his judgments, and his commandments, alway. %%% Kale onooyagalanga Mukama Katonda wo, ne weekuuma bye yakuutira n'amateeka ge n'emisango gye n'ebiragiro bye ennaku zonna. 05DEU011.002 And know ye this day: for I speak not with your children which have not known, and which have not seen the chastisement of the LORD your God, his greatness, his mighty hand, and his stretched out arm, %%% Era mumanye leero: kubanga soogera na baana bammwe abatannamanya era abatannalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, obukulu bwe, engalo ze ez'amaanyi, n'omukono gwe ogwagololwa, 05DEU011.003 And his miracles, and his acts, which he did in the midst of Egypt unto Pharaoh the king of Egypt, and unto all his land; %%% n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri Falaawo kabaka w’e Misiri n'ensi ye yonna; 05DEU011.004 And what he did unto the army of Egypt, unto their horses, and to their chariots; how he made the water of the Red sea to overflow them as they pursued after you, and how the LORD hath destroyed them unto this day; %%% era kye yakolera eggye ery'e Misiri; embalaasi zaabwe n'amagaali gaabwe; bwe yabakulukusizaako amazzi ag'Ennyanja Emmyufu bwe baali nga babagoberera, era Mukama bwe yabazikiriza okutuusa leero; 05DEU011.005 And what he did unto you in the wilderness, until ye came into this place; %%% era bye yabakolera mu ddungu okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; 05DEU011.006 And what he did unto Dathan and Abiram, the sons of Eliab, the son of Reuben: how the earth opened her mouth, and swallowed them up, and their households, and their tents, and all the substance that was in their possession, in the midst of all Israel: %%% era kye yakola Dasani ne Abiramu, abaana ba Eriyaabu, omwana wa Lewubeeni; ensi bwe yayasamya akamwa kaayo, n'ebamira bugobo, n'ab'omu nnyumba zaabwe, n'eweema zaabwe na buli kintu kiramu ekyabagoberera, wakati mu Isiraeri yenna: 05DEU011.007 But your eyes have seen all the great acts of the LORD which he did. %%% naye amaaso gammwe gaalabanga omulimu gwonna omukulu ogwa Mukama gwe yakola. 05DEU011.008 Therefore shall ye keep all the commandments which I command you this day, that ye may be strong, and go in and possess the land, whither ye go to possess it; %%% Kale muneekuumanga ekiragiro kyonna kye nkulagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, muyingire mulye ensi gye musomokera okugendamu okugirya; 05DEU011.009 And that ye may prolong your days in the land, which the LORD sware unto your fathers to give unto them and to their seed, a land that floweth with milk and honey. %%% era mulyoke mumale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okugibawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki. 05DEU011.010 For the land, whither thou goest in to possess it, is not as the land of Egypt, from whence ye came out, where thou sowedst thy seed, and wateredst it with thy foot, as a garden of herbs: %%% Kubanga ensi gy'oyingiramu okugirya, tefaanana ng'ensi y'e Misiri mwe mwava, mwe wasigiranga ensigo zo n'ogifukirira amazzi n'ekigere kyo, ng'ennimiro y'enva: 05DEU011.011 But the land, whither ye go to possess it, is a land of hills and valleys, and drinketh water of the rain of heaven: %%% nate ensi gye musomokera okugendamu okugirya ye asi ey'ebiwonvu n'ensozi, enywa amazzi ag'enkuba eva mu ggulu: 05DEU011.012 A land which the LORD thy God careth for: the eyes of the LORD thy God are always upon it, from the beginning of the year even unto the end of the year. %%% ensi Mukama Katonda wo gy'ayagala; amaaso ga Mukama Katonda wo gaba ku yo ennaku zonna, okuva omwaka we gusookera okutuusa ku nkomerero ya gwo. 05DEU011.013 And it shall come to pass, if ye shall hearken diligently unto my commandments which I command you this day, to love the LORD your God, and to serve him with all your heart and with all your soul, %%% Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna, 05DEU011.014 That I will give you the rain of your land in his due season, the first rain and the latter rain, that thou mayest gather in thy corn, and thy wine, and thine oil. %%% naatonnyesanga enkuba y'ensi yammwe mu ntuuko zaayo, enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, okungulenga eŋŋaano yo n’envinnyo yo n'amafuta go. 05DEU011.015 And I will send grass in thy fields for thy cattle, that thou mayest eat and be full. %%% Era naawanga omuddo mu nnimiro zo olw'ebisibo byo era onoolyanga n'okkuta. 05DEU011.016 Take heed to yourselves, that your heart be not deceived, and ye turn aside, and serve other gods, and worship them; %%% Mwekuumenga omutima gwammwe guleme okulimbibwa, ne mukyama, ne muweereza bakatonda abalala, ne mubasinza; 05DEU011.017 And then the LORD's wrath be kindled against you, and he shut up the heaven, that there be no rain, and that the land yield not her fruit; and lest ye perish quickly from off the good land which the LORD giveth you. %%% obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba obutatonnyanga, n'ensi obutabalanga bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva ku nsi ennungi Mukama gy'abawa. 05DEU011.018 Therefore shall ye lay up these my words in your heart and in your soul, and bind them for a sign upon your hand, that they may be as frontlets between your eyes. %%% Kale mutereke, ebigambo byange ebyo mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; era munaabisibanga okuba akabonero ku mikono gyammwe, era binaabanga eby'oku kyenyi, wakati w'amaaso gammwe. 05DEU011.019 And ye shall teach them your children, speaking of them when thou sittest in thine house, and when thou walkest by the way, when thou liest down, and when thou risest up. %%% Era munaabiyigirizanga, abaana bammwe nga mubinyumya, bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga. 05DEU011.020 And thou shalt write them upon the door posts of thine house, and upon thy gates: %%% Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo ne ku nzigi zo: 05DEU011.021 That your days may be multiplied, and the days of your children, in the land which the LORD sware unto your fathers to give them, as the days of heaven upon the earth. %%% ennaku zammwe zeeyongerenga, n'ennaku ez'abaana bammwe, ku nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okubawa, ng'ennaku ez'eggulu eriri waggulu w'ensi. 05DEU011.022 For if ye shall diligently keep all these commandments which I command you, to do them, to love the LORD your God, to walk in all his ways, and to cleave unto him; %%% Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ekiragiro kino kyonna kye mbalagira, okukikola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okwegatta naye; 05DEU011.023 Then will the LORD drive out all these nations from before you, and ye shall possess greater nations and mightier than yourselves. %%% Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mulya amawanga agabasinga obunene n'amaanyi. 05DEU011.024 Every place whereon the soles of your feet shall tread shall be yours: from the wilderness and Lebanon, from the river, the river Euphrates, even unto the uttermost sea shall your coast be. %%% Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga; omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey'omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe. 05DEU011.025 There shall no man be able to stand before you: for the LORD your God shall lay the fear of you and the dread of you upon all the land that ye shall tread upon, as he hath said unto you. %%% Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba. 05DEU011.026 Behold, I set before you this day a blessing and a curse; %%% Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa; 05DEU011.027 A blessing, if ye obey the commandments of the LORD your God, which I command you this day: %%% omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero: 05DEU011.028 And a curse, if ye will not obey the commandments of the LORD your God, but turn aside out of the way which I command you this day, to go after other gods, which ye have not known. %%% n'okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, naye ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga. 05DEU011.029 And it shall come to pass, when the LORD thy God hath brought thee in unto the land whither thou goest to possess it, that thou shalt put the blessing upon mount Gerizim, and the curse upon mount Ebal. %%% Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogendamu okugirya, oliteeka omukisa ogwo ku lusozi Gerizimu, n'okukolimirwa okwo ku lusozi Ebali. 05DEU011.030 Are they not on the other side Jordan, by the way where the sun goeth down, in the land of the Canaanites, which dwell in the champaign over against Gilgal, beside the plains of Moreh? %%% Ezo teziri mitala wa Yoludaani, ennyuma w'ekkubo ery'ebugwanjuba, mu nsi ey'Abakanani abatuula mu Alaba, ekyolekera Girugaali, ku mabbali g'emyera gya Mole? 05DEU011.031 For ye shall pass over Jordan to go in to possess the land which the LORD your God giveth you, and ye shall possess it, and dwell therein. %%% Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, era muligirya, ne mutuula omwo. 05DEU011.032 And ye shall observe to do all the statutes and judgments which I set before you this day. %%% Era munaakwatanga okukola amateeka gonna n'emisango bye nteeka mu maaso gammwe leero. 05DEU012.001 These are the statutes and judgments, which ye shall observe to do in the land, which the LORD God of thy fathers giveth thee to possess it, all the days that ye live upon the earth. %%% Gano ge mateeka n'emisango, bye munaakwatanga okukola mu nsi Mukama Katonda wa bajjajja bo gye yakuwa okugirya, ennaku zonna ze munaabeererangamu abalamu ku nsi. 05DEU012.002 Ye shall utterly destroy all the places, wherein the nations which ye shall possess served their gods, upon the high mountains, and upon the hills, and under every green tree: %%% Temulirema kuzikiriza bifo byonna amawanga ge mulirya mwe baaweererezanga bakatonda baabwe, ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi: 05DEU012.003 And ye shall overthrow their altars, and break their pillars, and burn their groves with fire; and ye shall hew down the graven images of their gods, and destroy the names of them out of that place. %%% era munaasuulanga ebyoto byabwe, era munaamenyaamenyanga empagi zaabwe, era munaayokyanga Abaasera baabwe n'omuliro; era munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; era mulizikiriza erinnya lyabwe mu kifo omwo. 05DEU012.004 Ye shall not do so unto the LORD your God. %%% Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe. 05DEU012.005 But unto the place which the LORD your God shall choose out of all your tribes to put his name there, even unto his habitation shall ye seek, and thither thou shalt come: %%% Naye mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza mu bika byammwe byonna okuteeka omwo erinnya lye, kye kifo mw'atuula, munaanoonyangayo, era onojjangayo; 05DEU012.006 And thither ye shall bring your burnt offerings, and your sacrifices, and your tithes, and heave offerings of your hand, and your vows, and your freewill offerings, and the firstlings of your herds and of your flocks: %%% era munaaleetanga eyo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ssaddaaka zammwe, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, era n'ebibereberye by’ente zammwe n'eby’endiga zammwe: 05DEU012.007 And there ye shall eat before the LORD your God, and ye shall rejoice in all that ye put your hand unto, ye and your households, wherein the LORD thy God hath blessed thee. %%% era munaaliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye munassangako emikono gyammwe, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe, Mukama Katonda wo mwe yakuweera omukisa. 05DEU012.008 Ye shall not do after all the things that we do here this day, every man whatsoever is right in his own eyes. %%% Temukolanga ng'ebyo byonna bwe biri bye tukola wano leero, buli muntu ekiri mu maaso ge ekirungi; 05DEU012.009 For ye are not as yet come to the rest and to the inheritance, which the LORD your God giveth you. %%% kubanga temunnatuuka mu kuwummula ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw'akuwa. 05DEU012.010 But when ye go over Jordan, and dwell in the land which the LORD your God giveth you to inherit, and when he giveth you rest from all your enemies round about, so that ye dwell in safety; %%% Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abasisa, n'abawa okuwummula eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga n'okutuula ne mutuula mirembe; 05DEU012.011 Then there shall be a place which the LORD your God shall choose to cause his name to dwell there; thither shall ye bring all that I command you; your burnt offerings, and your sacrifices, your tithes, and the heave offering of your hand, and all your choice vows which ye vow unto the LORD: %%% awo olulituuka mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, munaaleetanga eyo byonna bye mbalagira, ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ne ssaddaaka zammwe, ebitundu byammwe eby'ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwonna obusinga obulungi bwe mweyama Mukama: 05DEU012.012 And ye shall rejoice before the LORD your God, ye, and your sons, and your daughters, and your menservants, and your maidservants, and the Levite that is within your gates; forasmuch as he hath no part nor inheritance with you. %%% era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'Omuleevi ali munda w'enzigi zammwe, kubanga talina mugabo newakubadde obusika wamu nammwe. 05DEU012.013 Take heed to thyself that thou offer not thy burnt offerings in every place that thou seest: %%% Weekuumenga oleme okuweerayo ebyo bye muwaayo ebyokebwa mu buli kifo ky'olaba: 05DEU012.014 But in the place which the LORD shall choose in one of thy tribes, there thou shalt offer thy burnt offerings, and there thou shalt do all that I command thee. %%% naye mu kifo Mukama ky'alyeroboza mu kimu ku bika byammwe; eyo gy'onooweeranga ebyo bw'owaayo ebyokebwa era eyo gy'onookoleranga byonna bye nkulagira. 05DEU012.015 Notwithstanding thou mayest kill and eat flesh in all thy gates, whatsoever thy soul lusteth after, according to the blessing of the LORD thy God which he hath given thee: the unclean and the clean may eat thereof, as of the roebuck, and as of the hart. %%% Naye oyinza okutta ennyama n'okugirya munda w'enzigi zo zonna, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga, ng'omukisa gwa Mukama Katonda wo gwe yakuwa: abatali balongoofu n'abalongoofu bayinza okugiryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza. 05DEU012.016 Only ye shall not eat the blood; ye shall pour it upon the earth as water. %%% Kyokka temulyanga ku musaayi; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi: 05DEU012.017 Thou mayest not eat within thy gates the tithe of thy corn, or of thy wine, or of thy oil, or the firstlings of thy herds or of thy flock, nor any of thy vows which thou vowest, nor thy freewill offerings, or heave offering of thine hand: %%% Toliiranga munda w'enzigi zo kitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, newakubadde eky'envinnyo yo, newakubadde eky'amafuta go, newakubadde ebibereberye by'ente zo newakubadde eby'endiga zo, newakubadde ekintu kyonna ku ebyo bye weeyama, newakubadde ebyo by'owaayo ku bubwo, newakubadde ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwo: 05DEU012.018 But thou must eat them before the LORD thy God in the place which the LORD thy God shall choose, thou, and thy son, and thy daughter, and thy manservant, and thy maidservant, and the Levite that is within thy gates: and thou shalt rejoice before the LORD thy God in all that thou puttest thine hands unto. %%% naye onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo: era onoosanyukiranga ebyo byonna by'onossangako omukono gwo mu maaso ga Mukama Katonda wo. 05DEU012.019 Take heed to thyself that thou forsake not the Levite as long as thou livest upon the earth. %%% Weekuumenga oleme okwabulira Omuleevi ennaku zonna z'onoobeererangamu omulamu ku nsi yo. 05DEU012.020 When the LORD thy God shall enlarge thy border, as he hath promised thee, and thou shalt say, I will eat flesh, because thy soul longeth to eat flesh; thou mayest eat flesh, whatsoever thy soul lusteth after. %%% Mukama Katonda wo bw'aligaziya ensalo yo, nga bwe yakusuubiza, naawe n'oyogera nti Naalya ennyama, kubanga emmeeme yo eyagala okulya ennyama; oyinza okulya ennyama, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kuli. 05DEU012.021 If the place which the LORD thy God hath chosen to put his name there be too far from thee, then thou shalt kill of thy herd and of thy flock, which the LORD hath given thee, as I have commanded thee, and thou shalt eat in thy gates whatsoever thy soul lusteth after. %%% Oba ng'ekifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye kiriyinga okukuba ewala, onottanga ku nte zo ne ku mbuzi zo, Mukama ze yakuwa, nga bwe nnakulagira, era onooliiranga munda w'enzigi zo, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga. 05DEU012.022 Even as the roebuck and the hart is eaten, so thou shalt eat them: the unclean and the clean shall eat of them alike. %%% Ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa, bw'otyo bw'onoogiryangako: atali mulongoofu n'omulongoofu banaagiryangako okwenkanankana: 05DEU012.023 Only be sure that thou eat not the blood: for the blood is the life; and thou mayest not eat the life with the flesh. %%% Kyokka weetegereze olemenga okulya ku musaayi: kubanga omusaayi bwe bulamu; so toliiranga bulamu wamu n'ennyama. 05DEU012.024 Thou shalt not eat it; thou shalt pour it upon the earth as water. %%% Togulyanga; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi. 05DEU012.025 Thou shalt not eat it; that it may go well with thee, and with thy children after thee, when thou shalt do that which is right in the sight of the LORD. %%% Togulyanga; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi. 05DEU012.026 Only thy holy things which thou hast, and thy vows, thou shalt take, and go unto the place which the LORD shall choose: %%% Kyokka ebitukuvu byo by'olina n'obweyamo bwo onoobiddiranga n'oyingira mu kifo Mukama ky'alyeroboza; 05DEU012.027 And thou shalt offer thy burnt offerings, the flesh and the blood, upon the altar of the LORD thy God: and the blood of thy sacrifices shall be poured out upon the altar of the LORD thy God, and thou shalt eat the flesh. %%% era onooweerangayo ebyo by'owaayo ebyokebwa; ennyama n'omusaayi, ku kyoto kya Mukama Katonda wo: era omusaayi gwa ssaddaaka zo gunaafukibwanga ku kyoto kya Mukama Katonda wo; naawe onoolyanga ennyama. 05DEU012.028 Observe and hear all these words which I command thee, that it may go well with thee, and with thy children after thee for ever, when thou doest that which is good and right in the sight of the LORD thy God. %%% Kwata owulirenga ebigambo ebyo byonna bye nkulagira; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi era eky'ensonga; 05DEU012.029 When the LORD thy God shall cut off the nations from before thee, whither thou goest to possess them, and thou succeedest them, and dwellest in their land; %%% Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga mu maaso go, gy'oyingira okugalya, n'ogalya, n'otuula mu nsi yaabwe; 05DEU012.030 Take heed to thyself that thou be not snared by following them, after that they be destroyed from before thee; and that thou enquire not after their gods, saying, How did these nations serve their gods? even so will I do likewise. %%% weekuumenga oleme okutegebwa okugagoberera, bwe galimala okuzikirira mu maaso go; era olemenga okubuuza ebya bakatonda baabwe ng'oyogera nti Amawanga gano gaweereza gatya bakatonda baabwe? era nange bwe nnaakolanga bwe ntyo. 05DEU012.031 Thou shalt not do so unto the LORD thy God: for every abomination to the LORD, which he hateth, have they done unto their gods; for even their sons and their daughters they have burnt in the fire to their gods. %%% Tokolanga bw'otyo Mukama Katonda wo: kubanga buli kigambo Mukama ky'ayita eky'omuzizo ky'akyawa bali baakikolanga bakatonda baabwe: kubanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe baabookyanga omuliro eri bakatonda baabwe. 05DEU012.032 What thing soever I command you, observe to do it: thou shalt not add thereto, nor diminish from it. %%% Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga okukola: tokyongerangako, so tokisalangako. 05DEU013.001 If there arise among you a prophet, or a dreamer of dreams, and giveth thee a sign or a wonder, %%% Bwe wanaabangawo wakati mu ggwe nabbi oba omuloosi w'ebirooto, n'akuwa akabonero oba eky'amagero, 05DEU013.002 And the sign or the wonder come to pass, whereof he spake unto thee, saying, Let us go after other gods, which thou hast not known, and let us serve them; %%% akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne kituukirira, kye yakugambako ng'ayogera nti Tugobererenga bakatonda abalala b'otomanyanga, era tubaweerezenga; 05DEU013.003 Thou shalt not hearken unto the words of that prophet, or that dreamer of dreams: for the LORD your God proveth you, to know whether ye love the LORD your God with all your heart and with all your soul. %%% towuliranga bigambo bya nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto oyo: kubanga Mukama Katonda wammwe ng'abakema okumanya nga mwagala Mukama Katonda wammwe n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna. 05DEU013.004 Ye shall walk after the LORD your God, and fear him, and keep his commandments, and obey his voice, and ye shall serve him, and cleave unto him. %%% Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezaaga, ne mwegattanga naye. 05DEU013.005 And that prophet, or that dreamer of dreams, shall be put to death; because he hath spoken to turn you away from the LORD your God, which brought you out of the land of Egypt, and redeemed you out of the house of bondage, to thrust thee out of the way which the LORD thy God commanded thee to walk in. So shalt thou put the evil away from the midst of thee. %%% Era nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde eby'okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu, okukusendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw'otyo bw'onoggyangamu obubi wakati mu ggwe. 05DEU013.006 If thy brother, the son of thy mother, or thy son, or thy daughter, or the wife of thy bosom, or thy friend, which is as thine own soul, entice thee secretly, saying, Let us go and serve other gods, which thou hast not known, thou, nor thy fathers; %%% Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi ow'omu kifuba kyo, oba mukwano gwo, aliŋŋanga obulamu bwo ggwe, bw'akusendasendanga ekyama, ng'ayogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala, b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; 05DEU013.007 Namely, of the gods of the people which are round about you, nigh unto thee, or far off from thee, from the one end of the earth even unto the other end of the earth; %%% ku bakatonda ab'amawanga ababeetoolodde, abali okumpi naawe, oba abakuli ewala okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi: 05DEU013.008 Thou shalt not consent unto him, nor hearken unto him; neither shall thine eye pity him, neither shalt thou spare, neither shalt thou conceal him: %%% tomukkirizanga so tomuwuliranga; so n'eriiso lyo terimusaasiranga, so tosonyiwanga, so tomukwekanga: 05DEU013.009 But thou shalt surely kill him; thine hand shall be first upon him to put him to death, and afterwards the hand of all the people. %%% naye tolemanga kumutta; omukono gwo gwe gunaasookanga okuba ku ye okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubaako. 05DEU013.010 And thou shalt stone him with stones, that he die; because he hath sought to thrust thee away from the LORD thy God, which brought thee out of the land of Egypt, from the house of bondage. %%% Era onoomukubanga amayinja afe; kubanga agezezzaako okukusendasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu. 05DEU013.011 And all Israel shall hear, and fear, and shall do no more any such wickedness as this is among you. %%% Ne Isiraeri yenna anaawuliranga, ne batya, ne batakola nate bubi obwenkana awo wakati mu ggwe, 05DEU013.012 If thou shalt hear say in one of thy cities, which the LORD thy God hath given thee to dwell there, saying, %%% Bw'onoowuliranga nga boogera ku kimu ku bibuga byo, Mukama Katonda wo by'akuwa okutuula omwo, nga bagamba nti 05DEU013.013 Certain men, the children of Belial, are gone out from among you, and have withdrawn the inhabitants of their city, saying, Let us go and serve other gods, which ye have not known; %%% Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu ggwe, era abasenzesenze abatuula mu kibuga kyabwe, nga boogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala be mutamanyanga; 05DEU013.014 Then shalt thou enquire, and make search, and ask diligently; and, behold, if it be truth, and the thing certain, that such abomination is wrought among you; %%% onookeberanga n'onoonya n'obuuliriza; era laba, oba nga kya mazima, ekigambo ne kitegeerekeka, ng'eky'omuzizo ekyenkana awo kikolerwa wakati mu ggwe; 05DEU013.015 Thou shalt surely smite the inhabitants of that city with the edge of the sword, destroying it utterly, and all that is therein, and the cattle thereof, with the edge of the sword. %%% tolemanga kutta abatuula mu kibuga omwo n’obwogi bw'ekitala, ng'okizikiririza ddala ne byonna ebikirimu n'ebisibo byakyo, n'obwogi bw'ekitala. 05DEU013.016 And thou shalt gather all the spoil of it into the midst of the street thereof, and shalt burn with fire the city, and all the spoil thereof every whit, for the LORD thy God: and it shall be an heap for ever; it shall not be built again. %%% Era onookuŋŋaanyanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu luguudo lwakyo, n'oyokya ekibuga omuliro, n'omunyago gwonna buli kantu konna, eri Mukama Katonda wo: era kinaabanga kifunvu ennaku zonna; tekirizimbibwa nate. 05DEU013.017 And there shall cleave nought of the cursed thing to thine hand: that the LORD may turn from the fierceness of his anger, and shew thee mercy, and have compassion upon thee, and multiply thee, as he hath sworn unto thy fathers; %%% So tewabanga ku kintu ekyakolimirwa ekineegattanga n'omukono gwo: Mukama akyuke okuleka obusungu bwe obukambwe, akulage ekisa, akusaasire, era akwaze, nga bwe yalayirira bajjajja bo; 05DEU013.018 When thou shalt hearken to the voice of the LORD thy God, to keep all his commandments which I command thee this day, to do that which is right in the eyes of the LORD thy God. %%% bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okukolanga ekiri mu manso ga Mukama Katonda wo ekirungi. 05DEU014.001 Ye are the children of the LORD your God: ye shall not cut yourselves, nor make any baldness between your eyes for the dead. %%% Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe: temwesalanga, so temumwanga kiwalaata kyonna wakati w'amaaso gammwe olw'abafu. 05DEU014.002 For thou art an holy people unto the LORD thy God, and the LORD hath chosen thee to be a peculiar people unto himself, above all the nations that are upon the earth. %%% Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, era Mukama yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi. 05DEU014.003 Thou shalt not eat any abominable thing. %%% Tolyanga kintu kyonna kya muzizo. 05DEU014.004 These are the beasts which ye shall eat: the ox, the sheep, and the goat, %%% Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n’embuzi, 05DEU014.005 The hart, and the roebuck, and the fallow deer, and the wild goat, and the pygarg, and the wild ox, and the chamois. %%% enjaza n’empeewo n’ennangaazi n'embulabuzi n'entamu n'enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko. 05DEU014.006 And every beast that parteth the hoof, and cleaveth the cleft into two claws, and cheweth the cud among the beasts, that ye shall eat. %%% Na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era ekirina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, eyo gye munaalyanga. 05DEU014.007 Nevertheless these ye shall not eat of them that chew the cud, or of them that divide the cloven hoof; as the camel, and the hare, and the coney: for they chew the cud, but divide not the hoof; therefore they are unclean unto you. %%% Naye zino ze mutalyangako ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ku ezo ezirina ekinuulo ekyaseemu: eŋŋamira n'akamyu n'omusu, kubanga bizza obwenkulumo, naye tebyawulamu kinuulo, ebyo si birongoofu gye muli: 05DEU014.008 And the swine, because it divideth the hoof, yet cheweth not the cud, it is unclean unto you: ye shall not eat of their flesh, nor touch their dead carcase. %%% n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, eyo si nnongoofu gye muli: ku nnyama yaabyo temugiryangako, n'emirambo gyabyo temugikomangako. 05DEU014.009 These ye shall eat of all that are in the waters: all that have fins and scales shall ye eat: %%% Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba munaakiryanga: 05DEU014.010 And whatsoever hath not fins and scales ye may not eat; it is unclean unto you. %%% na buli ekitalina maggwa na magamba temukiryanga; si kirongoofu gye muli. 05DEU014.011 Of all clean birds ye shall eat. %%% Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako. 05DEU014.012 But these are they of which ye shall not eat: the eagle, and the ossifrage, and the ospray, %%% Naye zino ze mutalyangako: ennunda, n'empungu, ne makwanzi; 05DEU014.013 And the glede, and the kite, and the vulture after his kind, %%% ne wonzi, n'eddiirawamu, ne kamunye n'engeri ye; 05DEU014.014 And every raven after his kind, %%% na buli namuŋŋoona n'engeri ye; 05DEU014.015 And the owl, and the night hawk, and the cuckow, and the hawk after his kind, %%% ne maaya, n'olubugabuga, n’olusove, n'enkambo n'engeri yaayo; 05DEU014.016 The little owl, and the great owl, and the swan, %%% n'ekiwuugulu, n'ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu; 05DEU014.017 And the pelican, and the gier eagle, and the cormorant, %%% n'ekimbaala, n'ensega, n'enkobyokobyo; 05DEU014.018 And the stork, and the heron after her kind, and the lapwing, and the bat. %%% ne kasiida, ne ssekanyolya n'engeri ye, n’ekkookootezi, n'ekinyira. 05DEU014.019 And every creeping thing that flieth is unclean unto you: they shall not be eaten. %%% Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli: tebiriibwanga. 05DEU014.020 But of all clean fowls ye may eat. %%% Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako. 05DEU014.021 Ye shall not eat of anything that dieth of itself: thou shalt give it unto the stranger that is in thy gates, that he may eat it; or thou mayest sell it unto an alien: for thou art an holy people unto the LORD thy God. Thou shalt not seethe a kid in his mother's milk. %%% Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka: oyinza okukiwa munnaggwanga ali munda w'enzigi zo akirye; oba oyinza okukiguza munnaggwanga: kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina wagwo. 05DEU014.022 Thou shalt truly tithe all the increase of thy seed, that the field bringeth forth year by year. %%% Tolemanga kusolooza kitundu kya kkumi ku bibala byonna eby'ensigo zo ebinaavanga mu nnimiro buli mwaka. 05DEU014.023 And thou shalt eat before the LORD thy God, in the place which he shall choose to place his name there, the tithe of thy corn, of thy wine, and of thine oil, and the firstlings of thy herds and of thy flocks; that thou mayest learn to fear the LORD thy God always. %%% Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n’eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna. 05DEU014.024 And if the way be too long for thee, so that thou art not able to carry it; or if the place be too far from thee, which the LORD thy God shall choose to set his name there, when the LORD thy God hath blessed thee: %%% Era oba ng'olugendo lunaakuyinganga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa; 05DEU014.025 Then shalt thou turn it into money, and bind up the money in thine hand, and shalt go unto the place which the LORD thy God shall choose: %%% onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Kafonda wo ky'alyeroboza: 05DEU014.026 And thou shalt bestow that money for whatsoever thy soul lusteth after, for oxen, or for sheep, or for wine, or for strong drink, or for whatsoever thy soul desireth: and thou shalt eat there before the LORD thy God, and thou shalt rejoice, thou, and thine household, %%% kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo: 05DEU014.027 And the Levite that is within thy gates; thou shalt not forsake him; for he hath no part nor inheritance with thee. %%% n’Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe. 05DEU014.028 At the end of three years thou shalt bring forth all the tithe of thine increase the same year, and shalt lay it up within thy gates: %%% Buli myaka esatu bwe giggwangako, onoofulumyanga ekitundu kyonna eky'ekkumi eky'ebibala byo mu mwaka ogwo, n'okiterekanga munda w'enzigi zo: 05DEU014.029 And the Levite, (because he hath no part nor inheritance with thee,) and the stranger, and the fatherless, and the widow, which are within thy gates, shall come, and shall eat and be satisfied; that the LORD thy God may bless thee in all the work of thine hand which thou doest. %%% n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe, ne munnaggwanga, ne mulekwa, ne namwandu abali munda w'enzigi zo, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo gw'okola. 05DEU015.001 At the end of every seven years thou shalt make a release. %%% Buli myaka omusanvu bwe giggwangako, onoosumululanga. 05DEU015.002 And this is the manner of the release: Every creditor that lendeth ought unto his neighbour shall release it; he shall not exact it of his neighbour, or of his brother; because it is called the LORD's release. %%% Era eno ye ngeri y'okusumulula okwo: buli abanja anaasumululanga ekyo kye yawola muliraanwa we; takibanjanga muliraanwa we era muganda we; kubanga okusumulula kwa Mukama nga kulangiddwa. 05DEU015.003 Of a foreigner thou mayest exact it again: but that which is thine with thy brother thine hand shall release; %%% Munnaggwanga oyinza okukimubanja: naye ekintu kyonna ku bibyo ekiri ne muganda wo omukono gwo gunaakisumululanga. 05DEU015.004 Save when there shall be no poor among you; for the LORD shall greatly bless thee in the land which the LORD thy God giveth thee for an inheritance to possess it: %%% Naye tewaabenga baavu gy'oli, (kubanga Mukama taalemenga kukuwa mukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya;) 05DEU015.005 Only if thou carefully hearken unto the voice of the LORD thy God, to observe to do all these commandments which I command thee this day. %%% kyokka bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwatanga okukolanga ekiragiro kino kyonna kye nkulagira leero. 05DEU015.006 For the LORD thy God blesseth thee, as he promised thee: and thou shalt lend unto many nations, but thou shalt not borrow; and thou shalt reign over many nations, but they shall not reign over thee. %%% Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza: era onoowolanga amawanga mangi, naye teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe. 05DEU015.007 If there be among you a poor man of one of thy brethren within any of thy gates in thy land which the LORD thy God giveth thee, thou shalt not harden thine heart, nor shut thine hand from thy poor brother: %%% Bwe wanaabanga gy'oli omwavu, omu ku baganda bo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, tokakanyazanga mutima gwo, so tofunyanga ngalo zo eri muganda wo omwavu: 05DEU015.008 But thou shalt open thine hand wide unto him, and shalt surely lend him sufficient for his need, in that which he wanteth. %%% naye tolemanga kwanjuluza ngalo zo gy'ali, so tolemanga kumuwola ebinaamumalanga olw'okwetaaga kwe mu ekyo ky'abuliddwa. 05DEU015.009 Beware that there be not a thought in thy wicked heart, saying, The seventh year, the year of release, is at hand; and thine eye be evil against thy poor brother, and thou givest him nought; and he cry unto the LORD against thee, and it be sin unto thee. %%% Weekuumenga waleme okubaawo mu mutima gwo ekirowoozo ekikodo, ng'oyogera nti Omwaka ogw'omusanvu, omwaka ogusumululirwamu, gunaatera okutuuka; eriiso lyo ne liba bbi eri muganda wo omwavu, n'otomuwa kintu; n'akoowoola Mukama ng'akuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli. 05DEU015.010 Thou shalt surely give him, and thine heart shall not be grieved when thou givest unto him: because that for this thing the LORD thy God shall bless thee in all thy works, and in all that thou puttest thine hand unto. %%% Tolemanga kumuwa, so n'omutima gwo tegunakuwalanga bw'omuwa: kubanga olw'ekigambo ekyo Mukama Katonda wo kyanaavanga akuwa omukisa mu mulimu gwo gwonna ne mu byonna by'onossangako omukono gwo. 05DEU015.011 For the poor shall never cease out of the land: therefore I command thee, saying, Thou shalt open thine hand wide unto thy brother, to thy poor, and to thy needy, in thy land. %%% Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuluza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo. 05DEU015.012 And if thy brother, an Hebrew man, or an Hebrew woman, be sold unto thee, and serve thee six years; then in the seventh year thou shalt let him go free from thee. %%% Bwe bakuguzanga muganda wo, omusajja Omwebbulaniya oba mukazi Omwebbulaniya, n'amala emyaka mukaaga ng'akuweereza; mu mwaka ogw'omusanvu n'olyoka omuteeranga ddala okukuvaako. 05DEU015.013 And when thou sendest him out free from thee, thou shalt not let him go away empty: %%% Era bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako, tomutanga nga talina kintu: 05DEU015.014 Thou shalt furnish him liberally out of thy flock, and out of thy floor, and out of thy winepress: of that wherewith the LORD thy God hath blessed thee thou shalt give unto him. %%% onoomulabiranga ebingi ku mbuzi zo ne ku gguuliro lyo ne ku ssogolero lyo: nga Mukama Katonda wo bwe yakuwa omukisa, bw'onoomuwanga bw'otyo. 05DEU015.015 And thou shalt remember that thou wast a bondman in the land of Egypt, and the LORD thy God redeemed thee: therefore I command thee this thing to day. %%% Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula: kyenva nkulagira ekigambo ekyo leero. 05DEU015.016 And it shall be, if he say unto thee, I will not go away from thee; because he loveth thee and thine house, because he is well with thee; %%% Awo olunaatuukanga bw'anaakugambanga nti Sijja kufuluma kukuleka; kubanga akwagala ggwe n'ab'omu nnyumba yo, kubanga alaba ebirungi ewuwo; 05DEU015.017 Then thou shalt take an aul, and thrust it through his ear unto the door, and he shall be thy servant for ever. And also unto thy maidservant thou shalt do likewise. %%% n'olyoka oddiranga olukato, n'oluyisa mu kutu kwe n'okwasa n'oluggi, naye anaabeeranga muddu wo ennaku zonna. Era n'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo. 05DEU015.018 It shall not seem hard unto thee, when thou sendest him away free from thee; for he hath been worth a double hired servant to thee, in serving thee six years: and the LORD thy God shall bless thee in all that thou doest. %%% Tolowoozanga nga kizibu bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako; kubanga yakuweerereza emyaka mukaaga okusinga emirundi ebiri oyo aweerereza empeera: era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola. 05DEU015.019 All the firstling males that come of thy herd and of thy flock thou shalt sanctify unto the LORD thy God: thou shalt do no work with the firstling of thy bullock, nor shear the firstling of thy sheep. %%% Ebibereberye byonna ebisajja ente zo n'embuzi zo bye zinaazaalanga onootukuzanga eri Mukama Katonda wo: tokozanga mulimu gwonna kibereberye kya nte yo, so tosalanga byoya bya kibereberye kya mbuzi zo. 05DEU015.020 Thou shalt eat it before the LORD thy God year by year in the place which the LORD shall choose, thou and thy household. %%% Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo buli mwaka mu kifo Mukama ky'alyeroboza, ggwe n'ab'omu nnyumba yo. 05DEU015.021 And if there be any blemish therein, as if it be lame, or blind, or have any ill blemish, thou shalt not sacrifice it unto the LORD thy God. %%% Era bwe kinaabangako obulema bwonna, bwe kinaawenyeranga oba bwe kinaabanga ekizibe ky'amaaso, obulema bwonna bwonna obutali bulungi; tokiwangayo eri Mukama Katonda wo. 05DEU015.022 Thou shalt eat it within thy gates: the unclean and the clean person shall eat it alike, as the roebuck, and as the hart. %%% Onookiriiranga munda w'enzigi zo: abatali balongoofu n'abalongoofu banaakiryanga okwenkanankana, ng'empeewo era ng'enjaza. 05DEU015.023 Only thou shalt not eat the blood thereof; thou shalt pour it upon the ground as water. %%% Kyokka tolyanga musaayi gwakyo; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi. 05DEU016.001 Observe the month of Abib, and keep the passover unto the LORD thy God: for in the month of Abib the LORD thy God brought thee forth out of Egypt by night. %%% Okwatanga omwezi Abibu, weekuumenga Okuyitako eri Mukama Katonda wo: kubanga mu mwezi Abibu Mukama Katonda wo mwe yakuggira mu Misiri ekiro. 05DEU016.002 Thou shalt therefore sacrifice the passover unto the LORD thy God, of the flock and the herd, in the place which the LORD shall choose to place his name there. %%% Era onottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi n, ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. 05DEU016.003 Thou shalt eat no leavened bread with it; seven days shalt thou eat unleavened bread therewith, even the bread of affliction; for thou camest forth out of the land of Egypt in haste: that thou mayest remember the day when thou camest forth out of the land of Egypt all the days of thy life. %%% Tolyanga mmere nzimbulukuse wamu nakwo; onoomalanga ennaku musanvu ng'olya emmere eteri nzimbulukuse wamu nakwo, ye mmere ey'okunakuwala; kubanga wava mu nsi y'e Misiri ng'oyanguwa: ojjukirenga olunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwo. 05DEU016.004 And there shall be no leavened bread seen with thee in all thy coast seven days; neither shall there any thing of the flesh, which thou sacrificedst the first day at even, remain all night until the morning. %%% So tewalabikanga gy'oli kizimbulukusa mu nsalo zo zonna ennaku musanvu; so tewasigalangawo ku nnyama, gy'onottanga ku lunaku olw'olubereberye akawungeezi, okusulawo okukeesa obudde. 05DEU016.005 Thou mayest not sacrifice the passover within any of thy gates, which the LORD thy God giveth thee: %%% Tottiranga Kuyitako munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo, Mukama Katonda wo z'akuwa: 05DEU016.006 But at the place which the LORD thy God shall choose to place his name in, there thou shalt sacrifice the passover at even, at the going down of the sun, at the season that thou camest forth out of Egypt. %%% naye mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy'onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng'egwa, mu biro bye waviiramu mu Misiri. 05DEU016.007 And thou shalt roast and eat it in the place which the LORD thy God shall choose: and thou shalt turn in the morning, and go unto thy tents. %%% Era onookwokyanga n'okuliiranga mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza: era onookyukanga enkya, n'ogenda mu weema zo. 05DEU016.008 Six days thou shalt eat unleavened bread: and on the seventh day shall be a solemn assembly to the LORD thy God: thou shalt do no work therein. %%% Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna. 05DEU016.009 Seven weeks shalt thou number unto thee: begin to number the seven weeks from such time as thou beginnest to put the sickle to the corn. %%% Oneebaliranga ssabbiiti musanvu: okuva ku biro by'otanuliramu okussa ekiwabyo ku ŋŋaano ng'ekyali mu nnimiro kw'onoosookeranga okubala ssabbiiti omusanvu. 05DEU016.010 And thou shalt keep the feast of weeks unto the LORD thy God with a tribute of a freewill offering of thine hand, which thou shalt give unto the LORD thy God, according as the LORD thy God hath blessed thee: %%% Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti eri Mukama Katonda wo ng'omuwa omusolo ogw'ekyo ky'owaayo ku bubwo eky'omukono gwo, ky'onowangayo nga Mukama Katonda wo bw'akuwa omukisa: 05DEU016.011 And thou shalt rejoice before the LORD thy God, thou, and thy son, and thy daughter, and thy manservant, and thy maidservant, and the Levite that is within thy gates, and the stranger, and the fatherless, and the widow, that are among you, in the place which the LORD thy God hath chosen to place his name there. %%% era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'Omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. 05DEU016.012 And thou shalt remember that thou wast a bondman in Egypt: and thou shalt observe and do these statutes. %%% Era onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri: era onookwatanga onookolanga amateeka gano. 05DEU016.013 Thou shalt observe the feast of tabernacles seven days, after that thou hast gathered in thy corn and thy wine: %%% Oneekuumiranga embaga ey'ensiisira ennaku musanvu, bw'onoobanga omaze okutereka eby'omugguuliro lyo n'eby'omu ssogolero lyo: 05DEU016.014 And thou shalt rejoice in thy feast, thou, and thy son, and thy daughter, and thy manservant, and thy maidservant, and the Levite, the stranger, and the fatherless, and the widow, that are within thy gates. %%% era onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n'omuddu wo n'omuzaana wo, n'Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w'enzigi zo. 05DEU016.015 Seven days shalt thou keep a solemn feast unto the LORD thy God in the place which the LORD shall choose: because the LORD thy God shall bless thee in all thine increase, and in all the works of thine hands, therefore thou shalt surely rejoice. %%% Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky'alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw'engalo zo, era onoobanga n'essanyu jjereere. Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu: 05DEU016.016 Three times in a year shall all thy males appear before the LORD thy God in the place which he shall choose; in the feast of unleavened bread, and in the feast of weeks, and in the feast of tabernacles: and they shall not appear before the LORD empty: %%% Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu: 05DEU016.017 Every man shall give as he is able, according to the blessing of the LORD thy God which he hath given thee. %%% buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga ogwa Mukama Katonda wo gw'akuwadde: 05DEU016.018 Judges and officers shalt thou make thee in all thy gates, which the LORD thy God giveth thee, throughout thy tribes: and they shall judge the people with just judgment. %%% Abalamuzi n'abaami onossangawo mu nzigi zo zonna Mukama Katonda wo z'akuwa, ng'ebika byo bwe biri: era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga. 05DEU016.019 Thou shalt not wrest judgment; thou shalt not respect persons, neither take a gift: for a gift doth blind the eyes of the wise, and pervert the words of the righteous. %%% Tokyamyanga musango; tosalirizanga bantu: so tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu. 05DEU016.020 That which is altogether just shalt thou follow, that thou mayest live, and inherit the land which the LORD thy God giveth thee. %%% Eby'obutuukirivu ddala by'onoogobereranga, olyoke obenga omulamu, osikire ensi Mukama Katonda wo gy'akuwa. 05DEU016.021 Thou shalt not plant thee a grove of any trees near unto the altar of the LORD thy God, which thou shalt make thee. %%% Teweesimbiranga muti gwonna okuba Asera ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wo, ky'oneekoleranga. 05DEU016.022 Neither shalt thou set thee up any image; which the LORD thy God hateth. %%% So teweeyimiririzanga mpagi; Mukama Katonda wo gy'akyawa. 05DEU017.001 Thou shalt not sacrifice unto the LORD thy God any bullock, or sheep, wherein is blemish, or any evilfavouredness: for that is an abomination unto the LORD thy God. %%% Tosalanga okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo ente newakubadde endiga eriko obulema oba ekitali kirungi kyonna: kubanga ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. 05DEU017.002 If there be found among you, within any of thy gates which the LORD thy God giveth thee, man or woman, that hath wrought wickedness in the sight of the LORD thy God, in transgressing his covenant, %%% Bwe wanaalabikanga wakati wo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo Mukama Katonda wo z'akuwa, omusajja oba mukazi, akola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, ng'asobya ku ndagaano, 05DEU017.003 And hath gone and served other gods, and worshipped them, either the sun, or moon, or any of the host of heaven, which I have not commanded; %%% era ng'agenze n'aweereza bakatonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba ku ggye ery'omu ggulu, bye ssaalagira; 05DEU017.004 And it be told thee, and thou hast heard of it, and enquired diligently, and, behold, it be true, and the thing certain, that such abomination is wrought in Israel: %%% ne bakubuulira era ng'okiwulidde, n'olyoka onyiikiranga okubuuliriza, era, laba, bwe kinaabanga eky'amazima, ekigambo ne kitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekiri bwe kityo kikolerwa mu Isiraeri; 05DEU017.005 Then shalt thou bring forth that man or that woman, which have committed that wicked thing, unto thy gates, even that man or that woman, and shalt stone them with stones, till they die. %%% n'olyoka ofulumyanga omusajja oyo oba mukazi oyo, abakoze ekigambo ekyo ekibi, awali enzigi zo, omusajja oba mukazi; kale onoobakubanga amayinja bafe. 05DEU017.006 At the mouth of two witnesses, or three witnesses, shall he that is worthy of death be put to death; but at the mouth of one witness he shall not be put to death. %%% Olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba bajulirwa basatu, agenda okufa bw'anattibwanga; olw'akamwa k'omujulirwa omu tattibwanga. 05DEU017.007 The hands of the witnesses shall be first upon him to put him to death, and afterward the hands of all the people. So thou shalt put the evil away from among you. %%% Omukono gw'abajulirwa gwe gunaasookanga okumubaako okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubangako: Bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi wakati wo. 05DEU017.008 If there arise a matter too hard for thee in judgment, between blood and blood, between plea and plea, and between stroke and stroke, being matters of controversy within thy gates: then shalt thou arise, and get thee up into the place which the LORD thy God shall choose; %%% Bwe wanaabangawo ensonga ekulema okugisalira omusango, nga bavunaana omusaayi n'omusaayi, nga bavunaana ensonga n'ensonga, era nga bavunaana omuggo n'omuggo, nga bawakanira ebyo munda w'enzigi zo: kale onoogolokokanga, n'oyambuka mu kifo Mukama Katonda ky'alyeroboza; 05DEU017.009 And thou shalt come unto the priests the Levites, and unto the judge that shall be in those days, and enquire; and they shall shew thee the sentence of judgment: %%% n'ojja eri bakabona Abaleevi, n'eri omulamuzi anaabangawo mu nnaku ziri: n'obuuza; era bo banaakulaganga ensala y'omusango: 05DEU017.010 And thou shalt do according to the sentence, which they of that place which the LORD shall choose shall shew thee; and thou shalt observe to do according to all that they inform thee: %%% naawe onookolanga ng'omusango bwe gunaabanga, gwe banaakulaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza; era onookwatanga okukola nga byonna bwe binaabanga bye bakuyigiriza: 05DEU017.011 According to the sentence of the law which they shall teach thee, and according to the judgment which they shall tell thee, thou shalt do: thou shalt not decline from the sentence which they shall shew thee, to the right hand, nor to the left. %%% ng'etteeka bwe linaabanga lye banaakuyigirizanga, era ng'ensala bw'eneebanga gye banaakubuuliranga, onookolanga bw'otyo: tokyamanga okuva mu musango gwe banaakulaganga okugenda ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono: 05DEU017.012 And the man that will do presumptuously, and will not hearken unto the priest that standeth to minister there before the LORD thy God, or unto the judge, even that man shall die: and thou shalt put away the evil from Israel. %%% Era omuntu anaakolanga eby'ekyejo, nga tawulira kabona ayimirira eyo okuweerereza mu maaso ga Mukama Katonda wo, oba mulamuzi, omuntu oyo anaafanga: era onoggyangawo obubi obwo mu Isiraeri. 05DEU017.013 And all the people shall hear, and fear, and do no more presumptuously. %%% Era abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne batakola nate bya kyejo. 05DEU017.014 When thou art come unto the land which the LORD thy God giveth thee, and shalt possess it, and shalt dwell therein, and shalt say, I will set a king over me, like as all the nations that are about me; %%% Bw'oliba ng'otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, n'ogirya, n'otuula omwo; n'oyogera nti Nassaawo kabaka okunfuga, era nga n’amawanga gonna aganneetoolodde; 05DEU017.015 Thou shalt in any wise set him king over thee, whom the LORD thy God shall choose: one from among thy brethren shalt thou set king over thee: thou mayest not set a stranger over thee, which is not thy brother. %%% tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katonda wo gw'alyeroboza: omu ku baganda bo gw'olissaawo okuba kabaka okukufuga: si kirungi ggwe okussaawo munnaggwanga okukufuga, atali muganda wo. 05DEU017.016 But he shall not multiply horses to himself, nor cause the people to return to Egypt, to the end that he should multiply horses: forasmuch as the LORD hath said unto you, Ye shall henceforth return no more that way. %%% Kyokka teyeefuniranga mbalaasi nnyingi, so tazzangayo bantu mu Misiri, alyoke yeefunire embalaasi ennyingi: kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano. 05DEU017.017 Neither shall he multiply wives to himself, that his heart turn not away: neither shall he greatly multiply to himself silver and gold. %%% So teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka: so teyeefuniranga ffeeza nnyingi nnyo newakubadde zaabu. 05DEU017.018 And it shall be, when he sitteth upon the throne of his kingdom, that he shall write him a copy of this law in a book out of that which is before the priests the Levites: %%% Awo olulituuka bw'alituula ku ntebe y'obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng'aliggya mu ekyo ekiri mu maaso ga bakabona Abaleevi: 05DEU017.019 And it shall be with him, and he shall read therein all the days of his life: that he may learn to fear the LORD his God, to keep all the words of this law and these statutes, to do them: %%% era kinaabeeranga gy'ali, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe: ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga: 05DEU017.020 That his heart be not lifted up above his brethren, and that he turn not aside from the commandment, to the right hand, or to the left: to the end that he may prolong his days in his kingdom, he, and his children, in the midst of Israel. %%% omutima gwe gulemenga okugulumizibwa ku baganda be, era alemenga okukyama okuva mu kiragiro okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono: alyoke awangaale ennaku nnyingi mu bwakabaka bwe, ye n'abaana be, wakati mu Isiraeri. 05DEU018.001 The priests the Levites, and all the tribe of Levi, shall have no part nor inheritance with Israel: they shall eat the offerings of the LORD made by fire, and his inheritance. %%% Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika awamu ne Isiraeri: banaalyanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, n'obusika bwe. 05DEU018.002 Therefore shall they have no inheritance among their brethren: the LORD is their inheritance, as he hath said unto them. %%% So tebabanga na busika mu baganda baabwe: Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba. 05DEU018.003 And this shall be the priest's due from the people, from them that offer a sacrifice, whether it be ox or sheep; and they shall give unto the priest the shoulder, and the two cheeks, and the maw. %%% Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, ne ssebusa. 05DEU018.004 The firstfruit also of thy corn, of thy wine, and of thine oil, and the first of the fleece of thy sheep, shalt thou give him. %%% Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga, 05DEU018.005 For the LORD thy God hath chosen him out of all thy tribes, to stand to minister in the name of the LORD, him and his sons for ever. %%% Kubanga Mukama Katonda wo yamweroboza mu bika byo byonna, okuyimiriranga okuweerezanga n'erinnya lya Mukama, ye ne batabani be emirembe gyonna. 05DEU018.006 And if a Levite come from any of thy gates out of all Israel, where he sojourned, and come with all the desire of his mind unto the place which the LORD shall choose; %%% Era Omuleevi bw'anaavanga mu luggi lwonna ku nzigi zo mu Isiraeri yenna, mw'atuula, n'ajja mu kifo Mukama ky'alyeroboza, emmeeme ye nga yeegombera ddala okujja; 05DEU018.007 Then he shall minister in the name of the LORD his God, as all his brethren the Levites do, which stand there before the LORD. %%% anaaweerezanga n'erinnya lya Mukama Katonda we, nga baganda be bonna Abaleevi bwe bakola, abayimirira eyo mu maaso ga Mukama, 05DEU018.008 They shall have like portions to eat, beside that which cometh of the sale of his patrimony. %%% Banaabanga n'emigabo egyenkanankana okulya, obutassaako ebyo ebivudde mu kutunda obutaka bwe. 05DEU018.009 When thou art come into the land which the LORD thy God giveth thee, thou shalt not learn to do after the abominations of those nations. %%% Bw'olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, toyiganga kukola ng'eby'emizizo eby'amawanga gali bwe biri. 05DEU018.010 There shall not be found among you any one that maketh his son or his daughter to pass through the fire, or that useth divination, or an observer of times, or an enchanter, or a witch. %%% Tewalabikanga gy'oli muntu yenna ayisa mu muliro mutabani we oba muwala we, newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire; newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, 05DEU018.011 Or a charmer, or a consulter with familiar spirits, or a wizard, or a necromancer. %%% newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu. 05DEU018.012 For all that do these things are an abomination unto the LORD: and because of these abominations the LORD thy God doth drive them out from before thee. %%% Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama: era olw'emizizo egyo Mukama Katonda wo kyava abagoba mu maaso go. 05DEU018.013 Thou shalt be perfect with the LORD thy God. %%% Onoobanga eyatuukirira eri Katonda wo, 05DEU018.014 For these nations, which thou shalt possess, hearkened unto observers of times, and unto diviners: but as for thee, the LORD thy God hath not suffered thee so to do. %%% Kubanga amawanga gano g'olirya, bawulira abo abalaguza ebire n'abafumu: naye ggwe Mukama Katonda wo takuganyizza kukolanga bw'otyo. 05DEU018.015 The LORD thy God will raise up unto thee a Prophet from the midst of thee, of thy brethren, like unto me; unto him ye shall hearken; %%% Makama Katonda wo alikuyimusiza nabbi wakati wo, ku baganda bo, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira; 05DEU018.016 According to all that thou desiredst of the LORD thy God in Horeb in the day of the assembly, saying, Let me not hear again the voice of the LORD my God, neither let me see this great fire any more, that I die not. %%% nga byonna bwe byali bye wasaba Mukama Katonda wo ku Kolebu ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako, ng'oyogera nti Nneme okuwulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda wange, era nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa. 05DEU018.017 And the LORD said unto me, They have well spoken that which they have spoken. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Boogedde bulungi ebyo bye bagambye. 05DEU018.018 I will raise them up a Prophet from among their brethren, like unto thee, and will put my words in his mouth; and he shall speak unto them all that I shall command him. %%% Ndibayimusiza aabbi ku baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira. 05DEU018.019 And it shall come to pass, that whosoever will not hearken unto my words which he shall speak in my name, I will require it of him. %%% Kale olulituuka buli ataliwulira bigambo byange by'alyogera mu linnya lyange, ndimulanga ekyo. 05DEU018.020 But the prophet, which shall presume to speak a word in my name, which I have not commanded him to speak, or that shall speak in the name of other gods, even that prophet shall die. %%% Naye nabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkiridde, bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nabbi oyo anaafanga. 05DEU018.021 And if thou say in thine heart, How shall we know the word which the LORD hath not spoken? %%% Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde? 05DEU018.022 When a prophet speaketh in the name of the LORD, if the thing follow not, nor come to pass, that is the thing which the LORD hath not spoken, but the prophet hath spoken it presumptuously: thou shalt not be afraid of him. %%% Nabbi bw'anaayogeranga mu linnya lya Mukama, ekigambo ekyo bwe kitajja so tekituukirira, ekyo kye kigambo Mukama ky'atayogedde: nabbi ng'akyogedde nga yeetulinkiridde, tomutyanga. 05DEU019.001 When the LORD thy God hath cut off the nations, whose land the LORD thy God giveth thee, and thou succeedest them, and dwellest in their cities, and in their houses; %%% Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga, Mukama Katonda wo ensi yaago gy'akuwa, on'obasikira, n'otuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe; 05DEU019.002 Thou shalt separate three cities for thee in the midst of thy land, which the LORD thy God giveth thee to possess it. %%% olyeyawulira ebibuga bisatu wakati mu nsi yo, Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya. 05DEU019.003 Thou shalt prepare thee a way, and divide the coasts of thy land, which the LORD thy God giveth thee to inherit, into three parts, that every slayer may flee thither. %%% Olyelimira oluguudo, era olisala mu nsalo z'ensi yo, Mukama Katonda wo gy'akusisa, okuba ebitundu bisatu, buli atta omuntu addukirenga omwo. 05DEU019.004 And this is the case of the slayer, which shall flee thither, that he may live: Whoso killeth his neighbour ignorantly, whom he hated not in time past; %%% Era eno ye nsonga y'oyo atta omuntu anaddukiranga omwo n'aba nga mulamu: buli anattanga munne nga tamanyiridde, so nga tamukyawanga lubereberye; 05DEU019.005 As when a man goeth into the wood with his neighbour to hew wood, and his hand fetcheth a stroke with the axe to cut down the tree, and the head slippeth from the helve, and lighteth upon his neighbour, that he die; he shall flee unto one of those cities, and live: %%% ng'omuntu bw'ayingira mu kibira ne munne okutema omuti, n'agalula embazzi omukono gwe okutema omuti, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'egwa ku munne, n'okufa n'afa; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'aba mulamu: 05DEU019.006 Lest the avenger of the blood pursue the slayer, while his heart is hot, and overtake him, because the way is long, and slay him; whereas he was not worthy of death, inasmuch as he hated him not in time past. %%% awalana eggwanga ly'omusaayi alemenga okugoberera eyatta omuntu, omutima gwe nga gukyasunguwadde, n'amutuukako, kubanga olugendo lunene, n'amufumita okumutta; so ga tasaanidde kufa, kubanga tamukyawanga lubereberye. 05DEU019.007 Wherefore I command thee, saying, Thou shalt separate three cities for thee. %%% Kyenva nkulagira nga njogera nti Olyeyawulira ebibuga bisatu. 05DEU019.008 And if the LORD thy God enlarge thy coast, as he hath sworn unto thy fathers, and give thee all the land which he promised to give unto thy fathers; %%% Era oba nga Mukama Katonda wo aligaziya ensalo yo, nga bwe yalayirira bajjajja bo, n'akuwa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajja bo; 05DEU019.009 If thou shalt keep all these commandments to do them, which I command thee this day, to love the LORD thy God, and to walk ever in his ways; then shalt thou add three cities more for thee, beside these three: %%% bw'oneekuumanga ekiragiro kino kyonna okukikola, kye nkulagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wo, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; n'olyoka weeyongerera ebibuga bisatu ebirala ku bino ebisatu: 05DEU019.010 That innocent blood be not shed in thy land, which the LORD thy God giveth thee for an inheritance, and so blood be upon thee. %%% omusaayi ogutaliiko musango guleme okuyiika mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, bwe kityo omusaayi ne gukubaako. 05DEU019.011 But if any man hate his neighbour, and lie in wait for him, and rise up against him, and smite him mortally that he die, and fleeth into one of these cities: %%% Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amugolokokerako, n’amufumita okumutta n'okufa n'afa; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo: 05DEU019.012 Then the elders of his city shall send and fetch him thence, and deliver him into the hand of the avenger of blood, that he may die. %%% kale abakadde b'ekibuga kye, banaatumanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo mu mukono gw'oyo awalana eggwanga ly'omusaayi, afe. 05DEU019.013 Thine eye shall not pity him, but thou shalt put away the guilt of innocent blood from Israel, that it may go well with thee. %%% Eriiso lyo terimusaasiranga; naye onoggyangawo mu Isiraeri omusaayi ogutaliiko musango, olyoke olabenga ebirungi. 05DEU019.014 Thou shalt not remove thy neighbour's landmark, which they of old time have set in thine inheritance, which thou shalt inherit in the land that the LORD thy God giveth thee to possess it. %%% Tojjululanga nsalo ya muliraanwa wo, ab'edda gye baasimba, mu busika bwo bw'olisika mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya. 05DEU019.015 One witness shall not rise up against a man for any iniquity, or for any sin, in any sin that he sinneth: at the mouth of two witnesses, or at the mouth of three witnesses, shall the matter be established. %%% Omujulirwa omu tagolokokeranga ku muntu olw'obutali butuukirivu bwonna oba olw'ekibi kyonna, mu kibi kyonna ky'ayonoona: olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba olw'akamwa k'abajulirwa abasatu ekigambo kinaanywezebwanga. 05DEU019.016 If a false witness rise up against any man to testify against him that which is wrong; %%% Omujulirwa atali mutuukirivu bw'agolokokeranga ku muntu yenna okutegeeza ng'akoze bubi; 05DEU019.017 Then both the men, between whom the controversy is, shall stand before the LORD, before the priests and the judges, which shall be in those days; %%% abasajja bombi abawakana empaka ezo banaayimiriranga mu maaso ga Mukama, mu maaso ga bakabona n'abalamuzi abalibaawo mu nnaku ziri; 05DEU019.018 And the judges shall make diligent inquisition: and, behold, if the witness be a false witness, and hath testified falsely against his brother; %%% kale abalamuzi banaakemerezanga nayo: era, laba, omujulirwa oyo bw'abanga omujulirwa ow'obulimba, era ng'awaayirizza muganda we; 05DEU019.019 Then shall ye do unto him, as he had thought to have done unto his brother: so shalt thou put the evil away from among you. %%% kale munaamukoleranga nga bw'abadde alowooza okukola muganda we: bw'otyo bw'onoggyangawo obubi wakati wo. 05DEU019.020 And those which remain shall hear, and fear, and shall henceforth commit no more any such evil among you. %%% N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo. 05DEU019.021 And thine eye shall not pity; but life shall go for life, eye for eye, tooth for tooth, hand for hand, foot for foot. %%% So n'eriisa lyo terisaasiranga; obulamu bugattwenga obulamu, eriiso ligattwenga eriiso, erinnyo ligattwenga erinnyo, omukono gugattwenga omukono, ekigere kigattwenga ekigere. 05DEU020.001 When thou goest out to battle against thine enemies, and seest horses, and chariots, and a people more than thou, be not afraid of them: for the LORD thy God is with thee, which brought thee up out of the land of Egypt. %%% Bw'otabaalanga okulwana n'abalabe bo, n'olaba embalaasi n'amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y'e Misiri. 05DEU020.002 And it shall be, when ye are come nigh unto the battle, that the priest shall approach and speak unto the people, %%% Awo olunaatuukanga bwe munaasembereranga olutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu, 05DEU020.003 And shall say unto them, Hear, O Israel, ye approach this day unto battle against your enemies: let not your hearts faint, fear not, and do not tremble, neither be ye terrified because of them; %%% n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, musemberera olutalo leero okulwana n'abalabe bammwe: omutima gwammwe teguddiriranga; temutya so temukankana, so temubatekemukira; 05DEU020.004 For the LORD your God is he that goeth with you, to fight for you against your enemies, to save you. %%% kubanga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe, okubalwanirira eri abalabe bammwe okubalokola. 05DEU020.005 And the officers shall speak unto the people, saying, What man is there that hath built a new house, and hath not dedicated it? let him go and return to his house, lest he die in the battle, and another man dedicate it. %%% Era abaami banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti Muntu ki ali wano eyazimba ennyumba empya so nga tannagitukuza? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'agitukuza. 05DEU020.006 And what man is he that hath planted a vineyard, and hath not yet eaten of it? let him also go and return unto his house, lest he die in the battle, and another man eat of it. %%% Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? agende addeyo eka aleme okufiira mu lutalo, omulala n’alya ebibala byalwo. 05DEU020.007 And what man is there that hath betrothed a wife, and hath not taken her? let him go and return unto his house, lest he die in the battle, and another man take her. %%% Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa. 05DEU020.008 And the officers shall speak further unto the people, and they shall say, What man is there that is fearful and fainthearted? let him go and return unto his house, lest his brethren's heart faint as well as his heart. %%% Era abaami baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng'omutima gwe. 05DEU020.009 And it shall be, when the officers have made an end of speaking unto the people, that they shall make captains of the armies to lead the people. %%% Awo olunaatuukanga abaami bwe banaamalanga okwogera n'abantu, banassangawo abakulu b'eggye okukulembera abantu. 05DEU020.010 When thou comest nigh unto a city to fight against it, then proclaim peace unto it. %%% Bw'onoosembereranga ekibuga okulwana nakyo, n'olyoka iokirangiriranga emirembe. 05DEU020.011 And it shall be, if it make thee answer of peace, and open unto thee, then it shall be, that all the people that is found therein shall be tributaries unto thee, and they shall serve thee. %%% Awo olunaatuukanga, bwe kinaddangamu eby'emirembe, ne kikuggulirawo, abantu bonna abalabika omwo banaafuukanga ab'omusolo, era banaakuweerezanga. 05DEU020.012 And if it will make no peace with thee, but will make war against thee, then thou shalt besiege it: %%% Era bwe kitakkirizanga kulagaana mirembe naawe, naye nga kyagala okulwana naawe, n'olyoka okizingizanga: 05DEU020.013 And when the LORD thy God hath delivered it into thine hands, thou shalt smite every male thereof with the edge of the sword: %%% era Mukama Katonda wo bw'anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga buli musajja waamu n'obwogi bw'ekitala: 05DEU020.014 But the women, and the little ones, and the cattle, and all that is in the city, even all the spoil thereof, shalt thou take unto thyself; and thou shalt eat the spoil of thine enemies, which the LORD thy God hath given thee. %%% naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw'abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa. 05DEU020.015 Thus shalt thou do unto all the cities which are very far off from thee, which are not of the cities of these nations. %%% Bw'otyo bw'onookolanga ebibuga byonna ebikuli ewala ennyo, ebitali bya ku bibuga bya mawanga gano. 05DEU020.016 But of the cities of these people, which the LORD thy God doth give thee for an inheritance, thou shalt save alive nothing that breatheth: %%% Naye ku bibuga by'abantu bano, Mukama Katonda wo b'akuwa okuba obusika, towonyangako kintu ekissa omukka kiremenga okufa: 05DEU020.017 But thou shalt utterly destroy them; namely, the Hittites, and the Amorites, the Canaanites, and the Perizzites, the Hivites, and the Jebusites; as the LORD thy God hath commanded thee: %%% naye onoobazikiririzanga ddala; Omukiiti, n'Omwamoli, Omukanani, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi; nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: 05DEU020.018 That they teach you not to do after all their abominations, which they have done unto their gods; so should ye sin against the LORD your God. %%% balemenga okubayigiriza okukola ng'eby'emizizo byabwe byonna bwe biri, bye baakoleraaga bakatonda baabwe; bwe mutyo mwandisobezza Mukama Katonda wammwe. 05DEU020.019 When thou shalt besiege a city a long time, in making war against it to take it, thou shalt not destroy the trees thereof by forcing an axe against them: for thou mayest eat of them, and thou shalt not cut them down (for the tree of the field is man's life) to employ them in the siege: %%% Bw'onoomalanga ebiro bingi ng'ozingizza ekibuga, ng'olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng'ogigalulira embazzi; kubanga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw'omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo? 05DEU020.020 Only the trees which thou knowest that they be not trees for meat, thou shalt destroy and cut them down; and thou shalt build bulwarks against the city that maketh war with thee, until it be subdued. %%% Emiti egyo gyokka gy'omanyi nga si miti gya kulyako, gy'onoozikirizanga gy'onootemanga; era onoozimbiranga ebigo ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lwe kirigwa. 05DEU021.001 If one be found slain in the land which the LORD thy God giveth thee to possess it, lying in the field, and it be not known who hath slain him: %%% Omuntu bw'anaasangibwanga ng'attiddwa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya, ng'ali mu nsiko, so tekimanyibwa bw'ali amukubye: 05DEU021.002 Then thy elders and thy judges shall come forth, and they shall measure unto the cities which are round about him that is slain: %%% abakadde bo n'abalamuzi bo ne balyoka bafulumanga, era banaageranga okutuuka ku bibuga ebimwetoolodde oyo eyattibwa: 05DEU021.003 And it shall be, that the city which is next unto the slain man, even the elders of that city shall take an heifer, which hath not been wrought with, and which hath not drawn in the yoke; %%% awo olunaatuukanga ekibuga ekisinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, abakadde b'ekibuga ekyo banaddiranga ente enduusi okugiggya mu nte, etekozebwanga mirimu, etewalulanga ng'eri mu kikoligo; 05DEU021.004 And the elders of that city shall bring down the heifer unto a rough valley, which is neither eared nor sown, and shall strike off the heifer's neck there in the valley: %%% era abakadde b'ekibuga ekyo banaaserengesanga enduusi mu kiwonvu omuli amazzi agakulukuta, ekitali kirime so ekitali kisige, ne bakutula ensingo y'ente enduusi eyo mu kiwonvu: 05DEU021.005 And the priests the sons of Levi shall come near; for them the LORD thy God hath chosen to minister unto him, and to bless in the name of the LORD; and by their word shall every controversy and every stroke be tried: %%% awo bakabona abaana ba Leevi banaasemberanga; kubanga abo Mukama Katonda wo be yeeroboza okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lya Mukama; era ng'ekigambo kyabwe bwe kinaabanga, bwe zityo buli mpaka na buli kulumbagana bwe binaamalibwanga: 05DEU021.006 And all the elders of that city, that are next unto the slain man, shall wash their hands over the heifer that is beheaded in the valley: %%% awo abakadde bonna ab'ekibuga ekyo, abasinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu: 05DEU021.007 And they shall answer and say, Our hands have not shed this blood, neither have our eyes seen it. %%% era banaddangamu ne boogera nti Engalo zaffe si ze zaayiwa omusaayi guno, so n'amaaso gaffe tegaagulaba. 05DEU021.008 Be merciful, O LORD, unto thy people Israel, whom thou hast redeemed, and lay not innocent blood unto thy people of Israel's charge. And the blood shall be forgiven them. %%% Sonyiwa, ai Mukama, abantu bo Isiraeri, be wanunula, so toganya musaayi ogutaliiko musango okuba wakati mu bantu bo Isiraeri. Kale omusaayi gunaabasonyiyibwanga. 05DEU021.009 So shalt thou put away the guilt of innocent blood from among you, when thou shalt do that which is right in the sight of the LORD. %%% Bw'otyo bw'onoggyangawo omusaayi ogutaliiko musango wakati wo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi. 05DEU021.010 When thou goest forth to war against thine enemies, and the LORD thy God hath delivered them into thine hands, and thou hast taken them captive, %%% Bw'onootabaalanga okulwana n'abalabe bo, Mukama Katonda wo n'abagabula mu mikono gyo, n'obatwala nga mwandu, 05DEU021.011 And seest among the captives a beautiful woman, and hast a desire unto her, that thou wouldest have her to thy wife; %%% n'olaba mu mwandu omukazi omulungi, n'omwegomba, n'oyagala okumuwasa; 05DEU021.012 Then thou shalt bring her home to thine house; and she shall shave her head, and pare her nails; %%% n'olyoka omutwalanga ewuwo mu nnyumba yo; naye anaamwanga omutwe gwe n'asala enjala ze; 05DEU021.013 And she shall put the raiment of her captivity from off her, and shall remain in thine house, and bewail her father and her mother a full month: and after that thou shalt go in unto her, and be her husband, and she shall be thy wife. %%% era anaayambulanga ebyambalo eby'obunyage bwe, n'abeera mu nnyumba yo n'amala omwezi omulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina: kale oluvanayuma n'olyoka oyingira gy'ali; n'oba bba naye nga mukazi wo. 05DEU021.014 And it shall be, if thou have no delight in her, then thou shalt let her go whither she will; but thou shalt not sell her at all for money, thou shalt not make merchandise of her, because thou hast humbled her. %%% Awo olunaatuukanga, bw'otoomusanyukirenga n'akatono, onoomulekanga okugenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu n'akatono, tomukolanga ng'omuzaana, kubanga wamutoowaza. 05DEU021.015 If a man have two wives, one beloved, and another hated, and they have born him children, both the beloved and the hated; and if the firstborn son be hers that was hated: %%% Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi, omulala nga mukyawe, era nga bombi baamuzaalira abaana, omuganzi n'omukyawe; era omwana ow'obulenzi omubereberye bw'abanga ow'omukyawe; 05DEU021.016 Then it shall be, when he maketh his sons to inherit that which he hath, that he may not make the son of the beloved firstborn before the son of the hated, which is indeed the firstborn: %%% awo olunaatuukanga, ku lunaku lw'alisisa abaana be ebyo by'alina, tafuulanga mwana wa muganzi okuba omubereberye, omwana w'omukyawe, ye mubereberye, ng'akyali mulamu: 05DEU021.017 But he shall acknowledge the son of the hated for the firstborn, by giving him a double portion of all that he hath: for he is the beginning of his strength; the right of the firstborn is his. %%% naye anakkirizanga omubereberye, omwana w'omukyawe, ng'amuwa emigabo ebiri ku ebyo byonna by'alina: kubanga oyo kwe kusooka kw'amaanyi ge; eby'omubereberye bibye. 05DEU021.018 If a man have a stubborn and rebellious son, which will not obey the voice of his father, or the voice of his mother, and that, when they have chastened him, will not hearken unto them: %%% Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu, atakkiriza kugondera ddoboozi lya kitaawe, newakubadde eddoboozi lya nnyina, era newakubadde nga bamubonereza, nga takkiriza kubawulira: 05DEU021.019 Then shall his father and his mother lay hold on him, and bring him out unto the elders of his city, and unto the gate of his place; %%% kale kitaawe ne nnyina banaamukwatanga, ne bamufulumya eri abakadde ab'omu kibuga kyabwe, n'eri wankaaki w'ekifo kyabwe: 05DEU021.020 And they shall say unto the elders of his city, This our son is stubborn and rebellious, he will not obey our voice; he is a glutton, and a drunkard. %%% ne bagamba abakadde ab'omu kibuga kyabwe nti Omwana waffe ono mukakanyavu mujeemu, takkiriza kugondera ddoboozi lyaffe; wa mpisa mbi, era mutamiivu. 05DEU021.021 And all the men of his city shall stone him with stones, that he die: so shalt thou put evil away from among you; and all Israel shall hear, and fear. %%% Abasajja bonna ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja okumutta: bw'otyo bw'onoggyangawo obubi okuva wakati wo; kale Isiraeri yenna anaawuliranga anaatyanga. 05DEU021.022 And if a man have committed a sin worthy of death, and he be to be put to death, and thou hang him on a tree; %%% Era omuntu bw'aba ng'akoze ekibi ekisaanira okumussa; ne bamutta, n'omuwanika ku muti; 05DEU021.023 His body shall not remain all night upon the tree, but thou shalt in any wise bury him that day; (for he that is hanged is accursed of God;) that thy land be not defiled, which the LORD thy God giveth thee for an inheritance. %%% omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye tolemanga kumuziika ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa ng'akolimiddwa Katonda; olemenga okugwagwawaza ensi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika. 05DEU022.001 Thou shalt not see thy brother's ox or his sheep go astray, and hide thyself from them: thou shalt in any case bring them again unto thy brother. %%% Tolabanga nte ya muganda wo newakubadde endiga ye ng'ekyama, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kuzizza eri muganda wo. 05DEU022.002 And if thy brother be not nigh unto thee, or if thou know him not, then thou shalt bring it unto thine own house, and it shall be with thee until thy brother seek after it, and thou shalt restore it to him again. %%% Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali. 05DEU022.003 In like manner shalt thou do with his ass; and so shalt thou do with his raiment; and with all lost thing of thy brother's, which he hath lost, and thou hast found, shalt thou do likewise: thou mayest not hide thyself. %%% Era onookolanga n'endogoyi ye bw'otyo; era onookolanga n'ekyambalo kye bw'otyo; era onookolanga na buli kintu ekya muganda wo ekinaamubulanga naawe ng'okironze: okwekweka si kulungi. 05DEU022.004 Thou shalt not see thy brother's ass or his ox fall down by the way, and hide thyself from them: thou shalt surely help him to lift them up again. %%% Tolabanga ndogoyi ya muganda wo newakubadde ente ye ng'egudde mu kkubo, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kumubeera okuziyimusa nate. 05DEU022.005 The woman shall not wear that which pertaineth unto a man, neither shall a man put on a woman's garment: for all that do so are abomination unto the LORD thy God. %%% Omukazi tayambalanga kya musajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi: kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wo. 05DEU022.006 If a bird's nest chance to be before thee in the way in any tree, or on the ground, whether they be young ones, or eggs, and the dam sitting upon the young, or upon the eggs, thou shalt not take the dam with the young: %%% Ekisu ky'ennyonyi bwe kiba nga kikuli mu maaso mu kkubo, ku muti gwonna oba wansi, obwana nga weebuli oba magi, nnyina ng'atudde ku bwana oba ku magi, totwalanga nnyina wamu n'amagi: 05DEU022.007 But thou shalt in any wise let the dam go, and take the young to thee; that it may be well with thee, and that thou mayest prolong thy days. %%% tolemanga kuta nnyina, naye oyinza okwetwalira obwana; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi. 05DEU022.008 When thou buildest a new house, then thou shalt make a battlement for thy roof, that thou bring not blood upon thine house, if any man fall from thence. %%% Bw'ozimbanga ennyumba empya, onookolanga omuziziko ku ntikko, ng'omuntu yenna ayimye okwo n'agwa, olemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba yo. 05DEU022.009 Thou shalt not sow thy vineyard with divers seeds: lest the fruit of thy seed which thou hast sown, and the fruit of thy vineyard, be defiled. %%% Tosiganga ngeri bbiri za nsigo mu lusuku lwo olw'emizabbibu: olemenga okufiirwa ebibala byonna, ensigo ze wasiga n'ekyengera eky'olusuku. 05DEU022.010 Thou shalt not plow with an ox and an ass together. %%% Tolimisanga nte n'endogoyi wamu. 05DEU022.011 Thou shalt not wear a garment of divers sorts, as of woollen and linen together. %%% Toyambalanga lugoye olugatta ebibiri, ebyoya ne segamwenge wamu. 05DEU022.012 Thou shalt make thee fringes upon the four quarters of thy vesture, wherewith thou coverest thyself. %%% Oneekoleranga amatanvuuwa mu mbiriizi nnya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala. 05DEU022.013 If any man take a wife, and go in unto her, and hate her, %%% Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, n'ayingira gy'ali, n'amukyawa, 05DEU022.014 And give occasions of speech against her, and bring up an evil name upon her, and say, I took this woman, and when I came to her, I found her not a maid: %%% n'amuwawaabira eby'ensonyi, n'amuleetako erinnya ebbi, n'ayogera nti Nawasa omukazi ono, kale bwe nnamusembesera, ne ssimulabako bubonero bwa butamanya musajja: 05DEU022.015 Then shall the father of the damsel, and her mother, take and bring forth the tokens of the damsel's virginity unto the elders of the city in the gate: %%% awo kitaawe w'omukazi ne nayina ne balyoka baddira obubonero bw'omuwala oyo obw'obutamanya musajja ne babuleetera abakadde b'ekibuga mu mulyango: 05DEU022.016 And the damsel's father shall say unto the elders, I gave my daughter unto this man to wife, and he hateth her; %%% kitaawe w'omuwala n’agamba abakadde nti Omusajja ono namuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye; 05DEU022.017 And, lo, he hath given occasions of speech against her, saying, I found not thy daughter a maid; and yet these are the tokens of my daughter's virginity. And they shall spread the cloth before the elders of the city. %%% era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti Saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno. Kale ne bayaliira ekyambalo mu maaso g'abakadde b'ekibuga. 05DEU022.018 And the elders of that city shall take that man and chastise him; %%% Awo abakadde b'ekibuga ekyo ne batwala omusajja oyo ne bamukuba; 05DEU022.019 And they shall amerce him in an hundred shekels of silver, and give them unto the father of the damsel, because he hath brought up an evil name upon a virgin of Israel: and she shall be his wife; he may not put her away all his days. %%% ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi, ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga yamuleetako erinnya ebbi omuwala wa Isiraeri: era anaabanga mukazi we; tamugobanga ennaku ze zonna. 05DEU022.020 But if this thing be true, and the tokens of virginity be not found for the damsel: %%% Naye oba ng'ekigambo kino kya mazima, obubonero bw'obutamanya musajja obutalabika mu muwala: 05DEU022.021 Then they shall bring out the damsel to the door of her father's house, and the men of her city shall stone her with stones that she die: because she hath wrought folly in Israel, to play the whore in her father's house: so shalt thou put evil away from among you. %%% awo ne bafulumya omuwala oyo mu mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta: kubanga yakola obusirusiru mu Isiraeri, okwendera mu nnyumba ya kitaawe: bw'onoggyanga bw'otyo obubi wakati mu ggwe. 05DEU022.022 If a man be found lying with a woman married to an husband, then they shall both of them die, both the man that lay with the woman, and the woman: so shalt thou put away evil from Israel. %%% Bwe basanganga omusajja ng'asula n'omukazi eyafumbirwa bba, bombi bafenga omusajja eyasula n'omukazi, n'omukazi: bw'otyo bw'onoggyanga obubi mu Isiraeri. 05DEU022.023 If a damsel that is a virgin be betrothed unto an husband, and a man find her in the city, and lie with her; %%% Bwe wabangawo omuwala atamanyanga musajja ayogerezebwa omusajja, omusajja n'amusanga mu kibuga n'asula naye; 05DEU022.024 Then ye shall bring them both out unto the gate of that city, and ye shall stone them with stones that they die; the damsel, because she cried not, being in the city; and the man, because he hath humbled his neighbour's wife: so thou shalt put away evil from among you. %%% bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n'okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng'ali mu kibuga; n'omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe. 05DEU022.025 But if a man find a betrothed damsel in the field, and the man force her, and lie with her: then the man only that lay with her shall die: %%% Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, omusajja n'amuwaliriza, n'asula naye; omusajja eyasula naye yekka y'anaafanga: 05DEU022.026 But unto the damsel thou shalt do nothing; there is in the damsel no sin worthy of death: for as when a man riseth against his neighbour, and slayeth him, even so is this matter: %%% naye omuwala tolimukola kintu; ku muwala tekuli kibi ekinaamussa: kuba ng'omuntu bw'agolokokera ku munne n'amutta, n'ekigambo ekyo bwe kiri bwe kityo: 05DEU022.027 For he found her in the field, and the betrothed damsel cried, and there was none to save her. %%% kubanga yamusanga mu nnimiro; omuwala ayogerezebwa n'akuba enduulu, ne watabaawo amulokola. 05DEU022.028 If a man find a damsel that is a virgin, which is not betrothed, and lay hold on her, and lie with her, and they be found; %%% Omusajja bw'asanganga omuwala atamanyanga musajja, atayogerezebwa, n'amukwata n'asula naye ne babalaba; 05DEU022.029 Then the man that lay with her shall give unto the damsel's father fifty shekels of silver, and she shall be his wife; because he hath humbled her, he may not put her away all his days. %%% kale omusajja eyasula naye anaamuwanga kitaawe w'omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano, era anaabanga mukazi we, kubanga yamutoowaza; tayinza kumugoba ennaku ze zonna. 05DEU022.030 A man shall not take his father's wife, nor discover his father's skirt. %%% Omusajja tawasanga mukazi wa kitaawe, so tabikkulanga lukugiro lwa kitaawe. 05DEU023.001 He that is wounded in the stones, or hath his privy member cut off, shall not enter into the congregation of the LORD. %%% Eyafumitibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. 05DEU023.002 A bastard shall not enter into the congregation of the LORD; even to his tenth generation shall he not enter into the congregation of the LORD. %%% Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku babe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. 05DEU023.003 An Ammonite or Moabite shall not enter into the congregation of the LORD; even to their tenth generation shall they not enter into the congregation of the LORD for ever: %%% Omwamoni oba Omumowaabu tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku bantu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna: 05DEU023.004 Because they met you not with bread and with water in the way, when ye came forth out of Egypt; and because they hired against thee Balaam the son of Beor of Pethor of Mesopotamia, to curse thee. %%% kubanga tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, okukukolimira. 05DEU023.005 Nevertheless the LORD thy God would not hearken unto Balaam; but the LORD thy God turned the curse into a blessing unto thee, because the LORD thy God loved thee. %%% Naye Mukama Katonda wo yagaana okuwulira Balamu; naye Mukama Katonda wo n'afuula ekikolimo okuba omukisa gy'oli, kubanga Mukama Katonda wo yakwagala. 05DEU023.006 Thou shalt not seek their peace nor their prosperity all thy days for ever. %%% Tonoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe ennaku zo zonna emirembe gyonna. 05DEU023.007 Thou shalt not abhor an Edomite; for he is thy brother: thou shalt not abhor an Egyptian; because thou wast a stranger in his land. %%% Tokyawanga Mwedomu; kubanga muganda wo: tokyawanga Mumisiri; kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe. 05DEU023.008 The children that are begotten of them shall enter into the congregation of the LORD in their third generation. %%% Abaana bannakabirye abalibazaalirwa baliyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. 05DEU023.009 When the host goeth forth against thine enemies, then keep thee from every wicked thing. %%% Bw'otabaalanga mu nsiisira okulwana n'abalabe bo, oneekuumanga mu buli kintu ekibi. 05DEU023.010 If there be among you any man, that is not clean by reason of uncleanness that chanceth him by night, then shall he go abroad out of the camp, he shall not come within the camp: %%% Bwe wabanga mu mmwe omusajja yenna, atali mulongoofu olw'ekyo ekinaamubangako ekiro, anaafulumanga mu lusiisira, tayingiranga munda w'olusiisira: 05DEU023.011 But it shall be, when evening cometh on, he shall wash himself with water: and when the sun is down, he shall come into the camp again. %%% naye olunaatuukanga, obudde bwe buwungeeranga, anaanaabanga n'amazzi: kale enjuba bw'emalanga okugwa, n'ayingiranga mu lusiisira. 05DEU023.012 Thou shalt have a place also without the camp, whither thou shalt go forth abroad: %%% Era onoobanga n'ekifo ebweru w'olusiisira, gy'onoofulumanga: 05DEU023.013 And thou shalt have a paddle upon thy weapon; and it shall be, when thou wilt ease thyself abroad, thou shalt dig therewith, and shalt turn back and cover that which cometh from thee: %%% era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; awo olunaatuukanga, bw'onoofulumanga n'otuula, onookisimyanga n'okyuka n'obikka ku ekyo ekinaakuvangamu: 05DEU023.014 For the LORD thy God walketh in the midst of thy camp, to deliver thee, and to give up thine enemies before thee; therefore shall thy camp be holy: that he see no unclean thing in thee, and turn away from thee. %%% kubanga Mukama Katonda wo atambulira wakati, mu lusiisira lwo, okukuwonya, n'okugabula abalabe bo mu maaso go; olusiisira lwo kye lunaavanga lubeera olutukuvu: alemenga okulaba mu ggwe ekintu kyonna ekitali kirongoofu, n’akukuba amabega. 05DEU023.015 Thou shalt not deliver unto his master the servant which is escaped from his master unto thee: %%% Tozzanga eri mukama we omuddu eyabomba ku mukama we okujja gy'oli: 05DEU023.016 He shall dwell with thee, even among you, in that place which he shall choose in one of thy gates, where it liketh him best: thou shalt not oppress him. %%% anaatuulanga naawe, wakati mu ggwe, mu kifo ky'anaayagalanga munda w'enzigi zo olumu, w'anaasinganga okusiima: tomujooganga. 05DEU023.017 There shall be no whore of the daughters of Israel, nor a sodomite of the sons of Israel. %%% Tewabanga mwenzi ku bawala ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku batabani ba Isiraeri. 05DEU023.018 Thou shalt not bring the hire of a whore, or the price of a dog, into the house of the LORD thy God for any vow: for even both these are abomination unto the LORD thy God. %%% Toleetanga mpeera ya mwenzi, newakubadde empeera y'embwa, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo olw'obweyamo bwonna: kubanga ebyo byombiriri bya mizizo eri Mukama Katonda wo. 05DEU023.019 Thou shalt not lend upon usury to thy brother; usury of money, usury of victuals, usury of any thing that is lent upon usury: %%% Towolanga muganda wo lwa magoba; amagoba ag'effeeza, amagoba ag'ebyokulya, amagoba ag'ekintu kyonna ekiwolwa olw'amagoba: 05DEU023.020 Unto a stranger thou mayest lend upon usury; but unto thy brother thou shalt not lend upon usury: that the LORD thy God may bless thee in all that thou settest thine hand to in the land whither thou goest to possess it. %%% munnaggwanga si kibi okumuwola olw'amagoba; naye muganda wo tomuwolanga lwa magoba: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'oteekako omukono gwo, mu nsi gy'oyingiramu okugirya. 05DEU023.021 When thou shalt vow a vow unto the LORD thy God, thou shalt not slack to pay it: for the LORD thy God will surely require it of thee; and it would be sin in thee. %%% Bw'oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula: kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy'oli: era kyandibadde kibi mu ggwe: 05DEU023.022 But if thou shalt forbear to vow, it shall be no sin in thee. %%% Naye bw'olekanga okweyama, tekiriba kibi mu ggwe. 05DEU023.023 That which is gone out of thy lips thou shalt keep and perform; even a freewill offering, according as thou hast vowed unto the LORD thy God, which thou hast promised with thy mouth. %%% Ekyali kivudde mu mimwa gyo onookyekuumanga n'okikola; nga bwe weeyama Mukama Katonda wo, ekiweebwayo ku bubwo, kye wasuubiza n'akamwa ko. 05DEU023.024 When thou comest into thy neighbour's vineyard, then thou mayest eat grapes thy fill at thine own pleasure; but thou shalt not put any in thy vessel. %%% Bw'oyingiranga mu lusuku olw'emizabbibu olwa munno, si kibi okulya ezabbibu okukkuta nga bw'oyagala ggwe: naye toterekangako mu kintu kyo. 05DEU023.025 When thou comest into the standing corn of thy neighbour, then thou mayest pluck the ears with thine hand; but thou shalt not move a sickle unto thy neighbour's standing corn. %%% Bw'oyingiranga mu ŋŋaano etennakungulwa eya munno, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo; naye toteekanga kiwabyo kuŋŋaano etennakungulwa eya munno. 05DEU024.001 When a man hath taken a wife, and married her, and it come to pass that she find no favour in his eyes, because he hath found some uncleanness in her: then let him write her a bill of divorcement, and give it in her hand, and send her out of his house. %%% Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatono mu maaso ge, kubanga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye: 05DEU024.002 And when she is departed out of his house, she may go and be another man's wife. %%% Awo bw'abanga avudde mu nnyumba ye, ayinza okugenda okuba omukazi w'omusajja omulala. 05DEU024.003 And if the latter husband hate her, and write her a bill of divorcement, and giveth it in her hand, and sendeth her out of his house; or if the latter husband die, which took her to be his wife; %%% Era bba ow'okubiri bw'amukyawanga, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba ow'okubiri bw'afanga, eyamuwasa; 05DEU024.004 Her former husband, which sent her away, may not take her again to be his wife, after that she is defiled; for that is abomination before the LORD: and thou shalt not cause the land to sin, which the LORD thy God giveth thee for an inheritance. %%% bba ow'olubereberye, eyamugoba, tamutwalanga nate okumuwasa, bwe yamala okwonoonebwa; kubanga ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama: so tokozanga nsi bibi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika. 05DEU024.005 When a man hath taken a new wife, he shall not go out to war, neither shall he be charged with any business: but he shall be free at home one year, and shall cheer up his wife which he hath taken. %%% Omusaja bw'awasanga omukazi omuggya, tatabaalanga na ggye, so tasalirwanga mirimu gyonna: anaamalanga omwaka gumu eka nga yessa, anaasanyusanga omukazi gw'awasizza. 05DEU024.006 No man shall take the nether or the upper millstone to pledge: for he taketh a man's life to pledge. %%% Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw'omuntu. 05DEU024.007 If a man be found stealing any of his brethren of the children of Israel, and maketh merchandise of him, or selleth him; then that thief shall die; and thou shalt put evil away from among you. %%% Bwe basanganga omuntu ng'abba omuntu yenna ku baganda be abaana ba Isiraeri, n'amukola ng'omuddu, oba n'amutunda; kale omubbi oyo anattibwanga: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe. 05DEU024.008 Take heed in the plague of leprosy, that thou observe diligently, and do according to all that the priests the Levites shall teach you: as I commanded them, so ye shall observe to do. %%% Weekuumenga mu kibonobono eky'ebigenge, okwatirenga ddala okolenga byonna bakabona Abaleevi bye banaabayigirizanga: nga bwe nnabalagira bo, bwe mutyo bwe munaakwatanga okukola. 05DEU024.009 Remember what the LORD thy God did unto Miriam by the way, after that ye were come forth out of Egypt. %%% Jjukira Mukama Katonda wo bwe yakola Miryamu, mu kkubo bwe mwali muva mu Misiri. 05DEU024.010 When thou dost lend thy brother any thing, thou shalt not go into his house to fetch his pledge. %%% Bw'oyazikanga munno ekintu kyonna ekyazikibwa, toyingiranga mu nnyumba ye okukima omusingo gwe. 05DEU024.011 Thou shalt stand abroad, and the man to whom thou dost lend shall bring out the pledge abroad unto thee. %%% Onooyimiriranga ebweru, n'omuntu gw'oyazika anaafulumyanga omusingo ebweru gy'oli. 05DEU024.012 And if the man be poor, thou shalt not sleep with his pledge: %%% Era bw'abanga omwavu, tosulanga ng'olina omusingo gwe: 05DEU024.013 In any case thou shalt deliver him the pledge again when the sun goeth down, that he may sleep in his own raiment, and bless thee: and it shall be righteousness unto thee before the LORD thy God. %%% tolemanga kumuddiza musingo obudde bwe bunaawungeeranga, alyoke asule mu kyambalo kye, era akusabire omukisa: era kinaabanga butuukirivu eri ggwe mu maaso ga Mukama Katonda wo. 05DEU024.014 Thou shalt not oppress an hired servant that is poor and needy, whether he be of thy brethren, or of thy strangers that are in thy land within thy gates: %%% Tojooganga musenze akolera empeera omwavu eyeetaaga, bw'aba ku muwendo gwa baganda bo oba ku muwendo gwa bannaggwanga bo abali mu nsi yammwe munda w'enzigi zo: 05DEU024.015 At his day thou shalt give him his hire, neither shall the sun go down upon it; for he is poor, and setteth his heart upon it: lest he cry against thee unto the LORD, and it be sin unto thee. %%% ku lunaku lwe onoomuwanga empeera ye, so n’enjuba tegwanga ng'ekyaliyo; kubanga mwavu era agiteckako omwoyo gwe: alemenga okukaabiriranga Mukama okukuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli. 05DEU024.016 The fathers shall not be put to death for the children, neither shall the children be put to death for the fathers: every man shall be put to death for his own sin. %%% Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n'abaana tebattibwanga okubalanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta. 05DEU024.017 Thou shalt not pervert the judgment of the stranger, nor of the fatherless; nor take a widow's raiment to pledge: %%% Tokyamyanga musango gwa munnaggwanga, newakubadde ogw'atalina kitaawe; so tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu: 05DEU024.018 But thou shalt remember that thou wast a bondman in Egypt, and the LORD thy God redeemed thee thence: therefore I command thee to do this thing. %%% naye onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo. 05DEU024.019 When thou cuttest down thine harvest in thy field, and hast forgot a sheaf in the field, thou shalt not go again to fetch it: it shall be for the stranger, for the fatherless, and for the widow: that the LORD thy God may bless thee in all the work of thine hands. %%% Bw'okungulanga ebikungulwa byo mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, toddangayo nate okukikima; kinaabanga kya muanaggwanga, ky'atalina kitaawe, era kya nnamwandu: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mulimu gwonna ogw'engalo zo. 05DEU024.020 When thou beatest thine olive tree, thou shalt not go over the boughs again: it shall be for the stranger, for the fatherless, and for the widow. %%% Bw'okubanga omuzeyituuni gwo, toddanga mu matabi lwa kubiri: gunaabanga gwa munnaggwanga, gw'atalina kitaawe, era gwa nnamwandu. 05DEU024.021 When thou gatherest the grapes of thy vineyard, thou shalt not glean it afterward: it shall be for the stranger, for the fatherless, and for the widow. %%% Bw'okungulanga ezabbibu ez'omu lusuku lwo, toddangamu ng'omaze omulundi gumu: lunaabanga lwa munnaggwanga, lw'atalina kitaawe, era lwa nnamwandu. 05DEU024.022 And thou shalt remember that thou wast a bondman in the land of Egypt: therefore I command thee to do this thing. %%% Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo. 05DEU025.001 If there be a controversy between men, and they come unto judgment, that the judges may judge them; then they shall justify the righteous, and condemn the wicked. %%% Bwe wabangawo empaka n'abantu, ne bajja okusalirwa omusango, ne bagubasalira; banaasaliranga omutuukirivu okugusinga, n’omubi okusingibwa; 05DEU025.002 And it shall be, if the wicked man be worthy to be beaten, that the judge shall cause him to lie down, and to be beaten before his face, according to his fault, by a certain number. %%% awo olunaatuukanga, omubi bw'abanga azzizza ogunaamukubya, omulamuzi anaamugalamizanga, anaamukubiranga mu maaso ge, ng'obubi bwe bwe buli, emiggo emibale. 05DEU025.003 Forty stripes he may give him, and not exceed: lest, if he should exceed, and beat him above these with many stripes, then thy brother should seem vile unto thee. %%% Ayinza okumusalira emiggo ana, tasussangawo: muganda wo alemenga okufaanana atali wa muwendo gy'oli, bw'abanga asussizzaawo ng'amukubye emiggo mingi okusinga egyo. 05DEU025.004 Thou shalt not muzzle the ox when he treadeth out the corn. %%% Togisibanga kamwa ente ng'ewuula. 05DEU025.005 If brethren dwell together, and one of them die, and have no child, the wife of the dead shall not marry without unto a stranger: her husband's brother shall go in unto her, and take her to him to wife, and perform the duty of an husband's brother unto her. %%% Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n’afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba 05DEU025.006 And it shall be, that the firstborn which she beareth shall succeed in the name of his brother which is dead, that his name be not put out of Israel. %%% Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangalibwa okuva mu Isiraeri. 05DEU025.007 And if the man like not to take his brother's wife, then let his brother's wife go up to the gate unto the elders, and say, My husband's brother refuseth to raise up unto his brother a name in Israel, he will not perform the duty of my husband's brother. %%% Era omusajja bw'abanga tayagala kuwasa mukazi wa muganda we, mukazi wa muganda we ayambukenga mu mulyango eri abakadde, ayogere nti Muganda wa baze agaana okuyimusiza muganda we erinnya mu Isiraeri, tayagala kunkolera ebigwanira muganda wa baze. 05DEU025.008 Then the elders of his city shall call him, and speak unto him: and if he stand to it, and say, I like not to take her; %%% Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe bamuyitenga, bamugambe; kale bw'anaayimiriranga n'ayogera nti Saagala kumuwasa; 05DEU025.009 Then shall his brother's wife come unto him in the presence of the elders, and loose his shoe from off his foot, and spit in his face, and shall answer and say, So shall it be done unto that man that will not build up his brother's house. %%% kale mukazi wa muganda we ajjenga gy'ali mu maaso g'abakadde, anaanule engatto mu kigere kye, awande amalusu mu maaso ge; addemu ayogere nti Bwe kityo bwe kinaakolerwanga,omusajja atazimba nnyumba ya muganda we. 05DEU025.010 And his name shall be called in Israel, The house of him that hath his shoe loosed. %%% Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti Nnyumba y'oyo eyanaanulirwa engatto. 05DEU025.011 When men strive together one with another, and the wife of the one draweth near for to deliver her husband out of the hand of him that smiteth him, and putteth forth her hand, and taketh him by the secrets: %%% Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi: 05DEU025.012 Then thou shalt cut off her hand, thine eye shall not pity her. %%% omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga. 05DEU025.013 Thou shalt not have in thy bag divers weights, a great and a small. %%% Tobanga na bya kupima ebitali bimu, ekinene n'ekitono, mu nsawo yo. 05DEU025.014 Thou shalt not have in thine house divers measures, a great and a small. %%% Tobanga na bigero ebitali bimu, ekinene n'ekitono; mu nnyumba yo. 05DEU025.015 But thou shalt have a perfect and just weight, a perfect and just measure shalt thou have: that thy days may be lengthened in the land which the LORD thy God giveth thee. %%% Obenga n'eky'okupima ekituukirivu ekitasoba; obenga n'ekigero ekituukirivu ekitasoba: ennaku zo zibenga nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa. 05DEU025.016 For all that do such things, and all that do unrighteously, are an abomination unto the LORD thy God. %%% Kubanga bonna abakola ebiri ng'ebyo, bonna abakola ebitali bya butuukirivu, muzizo eri Mukama Katonda wo. 05DEU025.017 Remember what Amalek did unto thee by the way, when ye were come forth out of Egypt; %%% Jjukira Amaleki bwe yakukolera mu kkubo bwe mwali nga muva mu Misiri; 05DEU025.018 How he met thee by the way, and smote the hindmost of thee, even all that were feeble behind thee, when thou wast faint and weary; and he feared not God. %%% bwe yakusanga mu kkubo, n'atta abasembi ennyuma wo, abanafu bonna ab'ennyuma, bwe wazirika era ng'okooye; n'atatya Katonda. 05DEU025.019 Therefore it shall be, when the LORD thy God hath given thee rest from all thine enemies round about, in the land which the LORD thy God giveth thee for an inheritance to possess it, that thou shalt blot out the remembrance of Amalek from under heaven; thou shalt not forget it. %%% Awo olulituuka, Mukama Katonda wo bw'aliba ng'akuwadde okuwummula eri abalabe bo bonna enjuyi zonna, mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya; kyoliva osangula okujjukizibwa kwa Amaleki wansi w'eggulu: teweerabiranga. 05DEU026.001 And it shall be, when thou art come in unto the land which the LORD thy God giveth thee for an inheritance, and possessest it, and dwellest therein; %%% Awo olulituuka, bw'oliba ng'oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, n'ogirya, n'otuula omwo; 05DEU026.002 That thou shalt take of the first of all the fruit of the earth, which thou shalt bring of thy land that the LORD thy God giveth thee, and shalt put it in a basket, and shalt go unto the place which the LORD thy God shall choose to place his name there. %%% olitoola ku bibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'oliggya mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa: n'obiteeka mu kibbo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. 05DEU026.003 And thou shalt go unto the priest that shall be in those days, and say unto him, I profess this day unto the LORD thy God, that I am come unto the country which the LORD sware unto our fathers for to give us. %%% Era olijja eri kabona alibaawo mu biro ebyo, n’omugamba nti Njatulidde leero Mukama Katonda wo: nga nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baffe okugituwa. 05DEU026.004 And the priest shall take the basket out of thine hand, and set it down before the altar of the LORD thy God. %%% Kale kabona alitoola ekibbo ng'akiggya mu mukono gwo; n’akissa wansi mu maaso g'ekyoto kya Mukama Katonda wo. 05DEU026.005 And thou shalt speak and say before the LORD thy God, A Syrian ready to perish was my father, and he went down into Egypt, and sojourned there with a few, and became there a nation, great, mighty, and populous: %%% Naawe oliddamu n'oyogera mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Omusuuli eyali ng'anaatera okubula ye yali kitange, n'aserengeta mu Misiri, n'atuula omwo, omuwendo gwe nga mutono; n'afuuka eyo eggwanga, eddene, ery'amaanyi, eryayala. 05DEU026.006 And the Egyptians evil entreated us, and afflicted us, and laid upon us hard bondage: %%% Abamisiri ne batukola bubi, ne batubonyaabonya, ne batuteekako obuddu obukakanyavu: 05DEU026.007 And when we cried unto the LORD God of our fathers, the LORD heard our voice, and looked on our affliction, and our labour, and our oppression: %%% ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajja baffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe: 05DEU026.008 And the LORD brought us forth out of Egypt with a mighty hand, and with an outstretched arm, and with great terribleness, and with signs, and with wonders: %%% Mukama n'atuggya mu Misiri n’engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero: 05DEU026.009 And he hath brought us into this place, and hath given us this land, even a land that floweth with milk and honey. %%% n'atuyingiza mu kifo muno, n'atuwa ensi eno, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki. 05DEU026.010 And now, behold, I have brought the firstfruits of the land, which thou, O LORD, hast given me. And thou shalt set it before the LORD thy God, and worship before the LORD thy God: %%% Era kaakano, laba, ndeese ebibereberye eby'oku bibala by'ettaka, ly'ompadde ggwe, ai Mukama. Era olibiteeka wansi mu maaso ga Mukama Katonda wo n'osinza mu maaso ga Mukama Katonda wo: 05DEU026.011 And thou shalt rejoice in every good thing which the LORD thy God hath given unto thee, and unto thine house, thou, and the Levite, and the stranger that is among you. %%% era olisanyukira ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe n'ennyumba yo, ggwe n'Omuleevi ne munnaggwanga ali wakati wo. 05DEU026.012 When thou hast made an end of tithing all the tithes of thine increase the third year, which is the year of tithing, and hast given it unto the Levite, the stranger, the fatherless, and the widow, that they may eat within thy gates, and be filled; %%% Bw'onoomalanga okusolooza ekitundu eky'ekkumi eky'ekyengera kyo kyonna mu mwaka ogw'okusatu, gwe mwaka ogusoloolezebwamu ekitundu eky'ekkumi, n'olyoka okiwa Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, baliire munda w'enzigi zo bakkute; 05DEU026.013 Then thou shalt say before the LORD thy God, I have brought away the hallowed things out of mine house, and also have given them unto the Levite, and unto the stranger, to the fatherless, and to the widow, according to all thy commandments which thou hast commanded me: I have not transgressed thy commandments, neither have I forgotten them: %%% era onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange; era mbiwadde Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira: sisobezza ku biragiro byonna kimu, so sibyerabidde: 05DEU026.014 I have not eaten thereof in my mourning, neither have I taken away ought thereof for any unclean use, nor given ought thereof for the dead: but I have hearkened to the voice of the LORD my God, and have done according to all that thou hast commanded me. %%% sikiryangako nga nkyali mu nnaku zange, so sikiterekangako nga siri mulongoofu, so sikiwangako olw'abafu: nnawulira eddoboozi lya Mukama Katonda wange, nkoze nga byonna bwe biri bye wandagira. 05DEU026.015 Look down from thy holy habitation, from heaven, and bless thy people Israel, and the land which thou hast given us, as thou swarest unto our fathers, a land that floweth with milk and honey. %%% Tunula ng'oyima mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, mu ggulu, owe omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe walayirira bajjajja baffe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki. 05DEU026.016 This day the LORD thy God hath commanded thee to do these statutes and judgments: thou shalt therefore keep and do them with all thine heart, and with all thy soul. %%% Leero Mukama Katonda wo akulagira okukolanga amateeka gano n'emisango: kyonoovanga obyekuuma n'obikola n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna. 05DEU026.017 Thou hast avouched the LORD this day to be thy God, and to walk in his ways, and to keep his statutes, and his commandments, and his judgments, and to hearken unto his voice: %%% Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye n'emisango gye; n'owuliranga eddoboozi lye: 05DEU026.018 And the LORD hath avouched thee this day to be his peculiar people, as he hath promised thee, and that thou shouldest keep all his commandments; %%% era Mukama ayatudde leero ggwe okubeeranga eggwanga ery'envuma eri ye yennyini, nga bwe yakusuubiza, era weekuumenga ebiragiro bye byonna; 05DEU026.019 And to make thee high above all nations which he hath made, in praise, and in name, and in honour; and that thou mayest be an holy people unto the LORD thy God, as he hath spoken. %%% era akugulumizenga okusinga amawanga gonna ge yakola, olw'ettendo n'olw'erinnya n'olw'ekitiibwa; era obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo; nga bwe yayogera. 05DEU027.001 And Moses with the elders of Israel commanded the people, saying, Keep all the commandments which I command you this day. %%% Awo Musa n'abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti Mwekuumenga ekiragiro kyonna kye mbalagira leero. 05DEU027.002 And it shall be on the day when ye shall pass over Jordan unto the land which the LORD thy God giveth thee, that thou shalt set thee up great stones, and plaister them with plaister: %%% Kale olulituuka ku lunaku olwo lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, olyesimbira amayinja amanene, n'ogasiigako ennoni: 05DEU027.003 And thou shalt write upon them all the words of this law, when thou art passed over, that thou mayest go in unto the land which the LORD thy God giveth thee, a land that floweth with milk and honey; as the LORD God of thy fathers hath promised thee. %%% era oliwandiika ku go ebigambo byonna eby'amateeka gano, bw'olimala okusomoka; olyoke oyingire mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama, Katonda wa bajjajja bo, bwe yakusuubiza. 05DEU027.004 Therefore it shall be when ye be gone over Jordan, that ye shall set up these stones, which I command you this day, in mount Ebal, and thou shalt plaister them with plaister. %%% Awo olulituuka bwe muliba nga musomose Yoludaani; ne mulyoka musimba amayinja gano, ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, n'ogasiigako ennoni. 05DEU027.005 And there shalt thou build an altar unto the LORD thy God, an altar of stones: thou shalt not lift up any iron tool upon them. %%% Era olizimbira eyo ekyoto kya Mukama Katonda wo, ekyoto eky'amayinja: togayimusangako kintu kya kyuma. 05DEU027.006 Thou shalt build the altar of the LORD thy God of whole stones: and thou shalt offer burnt offerings thereon unto the LORD thy God: %%% Ekyoto kya Mukama Katonda wo onookizimbyanga amayinja agatali mateme: era okwo kw'onooweeranga ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo: 05DEU027.007 And thou shalt offer peace offerings, and shalt eat there, and rejoice before the LORD thy God. %%% era onoosalanga ebiweebwayo olw'emirembe, n'oliiranga eyo; era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo. 05DEU027.008 And thou shalt write upon the stones all the words of this law very plainly. %%% Era oliwandiikira ddala bulungi ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano. 05DEU027.009 And Moses and the priests the Levites spake unto all Israel, saying, Take heed, and hearken, O Israel; this day thou art become the people of the LORD thy God. %%% Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo. 05DEU027.010 Thou shalt therefore obey the voice of the LORD thy God, and do his commandments and his statutes, which I command thee this day. %%% Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okolanga ebiragiro bye n'amateeka ge, bye nkulagira leero. 05DEU027.011 And Moses charged the people the same day, saying, %%% Awo Musa n'akuutiira abantu ku lunaku olwo, ng'ayogera nti 05DEU027.012 These shall stand upon mount Gerizim to bless the people, when ye are come over Jordan; Simeon, and Levi, and Judah, and Issachar, and Joseph, and Benjamin: %%% Bano be baliyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa nga mumaze okusomoka Yoludaani; Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini: 05DEU027.013 And these shall stand upon mount Ebal to curse; Reuben, Gad, and Asher, and Zebulun, Dan, and Naphtali. %%% era bano be baliyimirira ku lusozi Ebali olw'okukolima; Lewubeetu; Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni; Ddaani, ne Nafutaali. 05DEU027.014 And the Levites shall speak, and say unto all the men of Israel with a loud voice, %%% Kale Abaleevi baliddamu ne bagamba abasajja bonna aba Isiraeri n'eddoboozi ddene nti 05DEU027.015 Cursed be the man that maketh any graven or molten image, an abomination unto the LORD, the work of the hands of the craftsman, and putteth it in a secret place. And all the people shall answer and say, Amen. %%% Akolimirwe omuntu akola ekifaananyi ekyole oba ekifumbe, eky'omuzizo eri Mukama; omulimu gw'engalo z'omukozi, n'akisimba mu kyama. Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.016 Cursed be he that setteth light by his father or his mother. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo anyooma kitaawe oba nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.017 Cursed be he that removeth his neighbour's landmark. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo ajjulula ensalo ya muliraanwa we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.018 Cursed be he that maketh the blind to wander out of the way. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo akyamya omuzibe w'amaaso okuva mu kkubo. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.019 Cursed be he that perverteth the judgment of the stranger, fatherless, and widow. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo akyamya ensonga eya munnaggwanga n'atalina kitaawe ne nnamwandu. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.020 Cursed be he that lieth with his father's wife; because he uncovereth his father's skirt. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo asula ne mukazi wa kitaawe; kubanga abikkudde olukugiro lwa kitaawe. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina: 05DEU027.021 Cursed be he that lieth with any manner of beast. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oya asula n'ensolo yonna yonna. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.022 Cursed be he that lieth with his sister, the daughter of his father, or the daughter of his mother. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo asula ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba muwala wa nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.023 Cursed be he that lieth with his mother in law. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo asula ne mukoddomi we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.024 Cursed be he that smiteth his neighbour secretly. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo akuba muliraanwa we mu kyama. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.025 Cursed be he that taketh reward to slay an innocent person. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo alya empeera olw'okuttisa omuntu ataliiko musango. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU027.026 Cursed be he that confirmeth not all the words of this law to do them. And all the people shall say, Amen. %%% Akolimirwe oyo atanyweza bigambo by’amateeka gano okubikolanga. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. 05DEU028.001 And it shall come to pass, if thou shalt hearken diligently unto the voice of the LORD thy God, to observe and to do all his commandments which I command thee this day, that the LORD thy God will set thee on high above all nations of the earth: %%% Awo olunaatuukanga, bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi: 05DEU028.002 And all these blessings shall come on thee, and overtake thee, if thou shalt hearken unto the voice of the LORD thy God. %%% n'emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo. 05DEU028.003 Blessed shalt thou be in the city, and blessed shalt thou be in the field. %%% Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo. 05DEU028.004 Blessed shall be the fruit of thy body, and the fruit of thy ground, and the fruit of thy cattle, the increase of thy kine, and the flocks of thy sheep. %%% Ekibala ky'omubiri gwo kinaabanga n'omukisa, n'ekibala ky'ettaka lyo, n'ekibala ky'ekisibo kyo, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo. 05DEU028.005 Blessed shall be thy basket and thy store. %%% Ekibbo kyo kinaabanga n'omukisa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu. 05DEU028.006 Blessed shalt thou be when thou comest in, and blessed shalt thou be when thou goest out. %%% Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga: 05DEU028.007 The LORD shall cause thine enemies that rise up against thee to be smitten before thy face: they shall come out against thee one way, and flee before thee seven ways. %%% Mukama anaakubiranga mu maaso go abalabe bo abakugolokokerako: banaafulumanga okukutabaala mu kkubo limu, ne baddukanga mu maaso go mu makubo musanvu. 05DEU028.008 The LORD shall command the blessing upon thee in thy storehouses, and in all that thou settest thine hand unto; and he shall bless thee in the land which the LORD thy God giveth thee. %%% Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by'oteekako omukono gwo; era anaakuweeranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa. 05DEU028.009 The LORD shall establish thee an holy people unto himself, as he hath sworn unto thee, if thou shalt keep the commandments of the LORD thy God, and walk in his ways. %%% Mukama anaakunywezanga okuba eggwanga ettukuvu eri ye, nga bwe yakulayirira; bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliraaga mu makubo ge. 05DEU028.010 And all people of the earth shall see that thou art called by the name of the LORD; and they shall be afraid of thee. %%% Awo amawanga gonna ag'oku nsi ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ne gakutyanga: 05DEU028.011 And the LORD shall make thee plenteous in goods, in the fruit of thy body, and in the fruit of thy cattle, and in the fruit of thy ground, in the land which the LORD sware unto thy fathers to give thee. %%% Era Mukama anaakugaggawazanga olw'ebirungi, mu bibala by'omubiri gwo ne mu bibala by'ensolo zo ne mu bibala by'ettaka lyo; mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo okukuwa. 05DEU028.012 The LORD shall open unto thee his good treasure, the heaven to give the rain unto thy land in his season, and to bless all the work of thine hand: and thou shalt lend unto many nations, and thou shalt not borrow. %%% Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y'ensi yo mu budde bwayo, n'okuwa omukisa omulimu gwonna ogw'omukono gwo: era onoowolanga amawanga mangi; so teweewolanga. 05DEU028.013 And the LORD shall make thee the head, and not the tail; and thou shalt be above only, and thou shalt not be beneath; if that thou hearken unto the commandments of the LORD thy God, which I command thee this day, to observe and to do them: %%% Era Mukama anaakufuulanga omutwe so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi; bw'oti onowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo; bye nkukuutira leero, okubikwatanga n'okubikolanga; 05DEU028.014 And thou shalt not go aside from any of the words which I command thee this day, to the right hand, or to the left, to go after other gods to serve them. %%% n'olema okukyamanga; okuva mu kigambo kyonna ku ebyo bye mbalagira leero, okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono, okugoberera bakatonda abalala okubaweereza: 05DEU028.015 But it shall come to pass, if thou wilt not hearken unto the voice of the LORD thy God, to observe to do all his commandments and his statutes which I command thee this day; that all these curses shall come upon thee, and overtake thee: %%% Naye olulituuka, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero okubikola; ebikolimo bino byonna birikujjira, birikutuukako. 05DEU028.016 Cursed shalt thou be in the city, and cursed shalt thou be in the field. %%% Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo. 05DEU028.017 Cursed shall be thy basket and thy store. %%% Ekibbo kyo kirikolimirwa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu. 05DEU028.018 Cursed shall be the fruit of thy body, and the fruit of thy land, the increase of thy kine, and the flocks of thy sheep. %%% Ebibala by'omubiri gwo birikolimirwa, n'ebibala by'ettaka lyo, ezzadde ly'ente zo, n'abaana b'embuzi zo. 05DEU028.019 Cursed shalt thou be when thou comest in, and cursed shalt thou be when thou goest out. %%% Onookolimirwanga bw'onooyingiranga era onookolimirwanga bw'onoofulumanga. 05DEU028.020 The LORD shall send upon thee cursing, vexation, and rebuke, in all that thou settest thine hand unto for to do, until thou be destroyed, and until thou perish quickly; because of the wickedness of thy doings, whereby thou hast forsaken me. %%% Mukama anaakusindikangako okukolimirwa n'okulemwa n'okunenyezebwa; mu byonna by'oteekako omukono gwo okukola, okutuusa lw'olizikirizibwa, n'okutuusa lw'olifaafaagana amangu; olw'obubi bw'ebikolwa byo ebyakunsengusa. 05DEU028.021 The LORD shall make the pestilence cleave unto thee, until he have consumed thee from off the land, whither thou goest to possess it. %%% Mukama anaakulwazanga kawumpuli yeegattenga naawe okutuusa lw'alikumalawo okuva ku nsi, gy'oyingiramu okugirya. 05DEU028.022 The LORD shall smite thee with a consumption, and with a fever, and with an inflammation, and with an extreme burning, and with the sword, and with blasting, and with mildew; and they shall pursue thee until thou perish. %%% Mukama anaakukubanga akakono, n'omusujja, n'okuzimba, n'okwokya okungi, n'ekitala, n'okwonooneka, n'okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw'olizikirira. 05DEU028.023 And thy heaven that is over thy head shall be brass, and the earth that is under thee shall be iron. %%% N'eggulu lyo eriri waggulu ku mutwe gwo linaabanga kikomo, n'ettaka eriri wansi wo linaabanga kyuma. 05DEU028.024 The LORD shall make the rain of thy land powder and dust: from heaven shall it come down upon thee, until thou be destroyed. %%% Mukama anaafuulanga enkuba ey'ensi yo okuba effufugge n'enfuufu: mu ggulu mw'enaavanga okukka ku ggwe, okutuusa lw'olizikirizibwa. 05DEU028.025 The LORD shall cause thee to be smitten before thine enemies: thou shalt go out one way against them, and flee seven ways before them: and shalt be removed into all the kingdoms of the earth. %%% Mukama anaakukubanga mu maaso g'abalabe bo: onoofulumanga okubatabaala mu kkubo limu, era onoddukanga mu makubo musanvu mu maaso gaabwe: era onooyuuganyizibwanga eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi: 05DEU028.026 And thy carcase shall be meat unto all fowls of the air, and unto the beasts of the earth, and no man shall fray them away. %%% N'omulambo gwo gunaabanga kya kulya kya nnyonyi zonna ez'omu bbanga, era kya nsolo ez'oku nsi, so tewaabengawo aliziguŋŋumula. 05DEU028.027 The LORD will smite thee with the botch of Egypt, and with the emerods, and with the scab, and with the itch, whereof thou canst not be healed. %%% Mukama anaakuleetangako ejjute ery'e Misiri, n'amabwa, n'olukonvuba n'obuwere ebitakuwonyezekako: 05DEU028.028 The LORD shall smite thee with madness, and blindness, and astonishment of heart: %%% Mukama anaakuleetangako eddalu n'obuzibe bw'amsaso n'okusamaalirira kw'omutima: 05DEU028.029 And thou shalt grope at noonday, as the blind gropeth in darkness, and thou shalt not prosper in thy ways: and thou shalt be only oppressed and spoiled evermore, and no man shall save thee. %%% era onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza; so toolabenga mukisa mu makubo go: era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo anaakulokola. 05DEU028.030 Thou shalt betroth a wife, and another man shall lie with her: thou shalt build an house, and thou shalt not dwell therein: thou shalt plant a vineyard, and shalt not gather the grapes thereof. %%% Onooyogerezanga omukazi, n'omulala anaasulanga naye: onoozimbanga ennyumba, so toobeerenga omwo: onoosimbanga olusuku lw'emizabbibu, so toolyenga bibala byalwo. 05DEU028.031 Thine ox shall be slain before thine eyes, and thou shalt not eat thereof: thine ass shall be violently taken away from before thy face, and shall not be restored to thee: thy sheep shall be given unto thine enemies, and thou shalt have none to rescue them. %%% Ente yo enettirwanga mu maaso go, so toogiryengako: endogoyi yo eneenyagibwanga lwa maanyi mu maaso go, so teekuddizibwenga: endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, so toobengako anaakulokolanga. 05DEU028.032 Thy sons and thy daughters shall be given unto another people, and thine eyes shall look, and fail with longing for them all the day long: and there shall be no might in thine hand: %%% Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala, era amaaso go ganaatunulanga ganaazibanga olw'okubeegomba okuzibya obudde: so tewaabengawo kintu ekinaabanga mu buyinza bw'omukono gwo. 05DEU028.033 The fruit of thy land, and all thy labours, shall a nation which thou knowest not eat up; and thou shalt be only oppressed and crushed alway: %%% Ebibala by'ettaka lyo, n'emirimu gyo gyonna, eggwanga ly'otomanyi liribirya; era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoobetentebwanga ennaku zonna: 05DEU028.034 So that thou shalt be mad for the sight of thine eyes which thou shalt see. %%% n'okulaluka n'olaluka olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga. 05DEU028.035 The LORD shall smite thee in the knees, and in the legs, with a sore botch that cannot be healed, from the sole of thy foot unto the top of thy head. %%% Mukama anaakulwazanga amaviivi n'amagulu ejjute ebbi, ly'otowonyezeka, okuva munda w'ekigere kyo okutuusa ku bwezinge bw'omutwe gwo. 05DEU028.036 The LORD shall bring thee, and thy king which thou shalt set over thee, unto a nation which neither thou nor thy fathers have known; and there shalt thou serve other gods, wood and stone. %%% Mukama anaakuleetanga ggwe ne kabaka gw'oliyimusa okukufuga, eri eggwanga ly'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala, emiti n'amayinja. 05DEU028.037 And thou shalt become an astonishment, a proverb, and a byword, among all nations whither the LORD shall lead thee. %%% Era onoofuukanga ekyewuunyo, olugero, n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna Mukama gy’anaakutwalanga. 05DEU028.038 Thou shalt carry much seed out into the field, and shalt gather but little in; for the locust shall consume it. %%% Onoofulumyanga mu animiro ensigo nnyingi, onooyingizanga ntono; kubanga enzige eneegiryanga: 05DEU028.039 Thou shalt plant vineyards, and dress them, but shalt neither drink of the wine, nor gather the grapes; for the worms shall eat them. %%% Onoosimbanga ensuku z'emizabbibu n'ozirima, naye toonywenga ku nvinnyo yaamu newakubadde okukungula; kubanga akawuka kanaagiryanga. 05DEU028.040 Thou shalt have olive trees throughout all thy coasts, but thou shalt not anoint thyself with the oil; for thine olive shall cast his fruit. %%% Onoobanga n'emizeyituuni mu nsalo zo zonna, naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga omuzeyituuni gwo gunaakunkumulanga ebibala byagwo. 05DEU028.041 Thou shalt beget sons and daughters, but thou shalt not enjoy them; for they shall go into captivity. %%% Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe: 05DEU028.042 All thy trees and fruit of thy land shall the locust consume. %%% Emiti gyo gyonna n'ebibala by'ettaka lyo enzige eneebiryanga. 05DEU028.043 The stranger that is within thee shall get up above thee very high; and thou shalt come down very low. %%% Munnaggwanga ali wakati mu ggwe aneeyongerayongeranga okulinnya waggulu okukusinga; naawe oneeyongerayongeranga okukka wansi. 05DEU028.044 He shall lend to thee, and thou shalt not lend to him: he shall be the head, and thou shalt be the tail. %%% Anaakuwolanga; naawe toomuwolenga: anaabanga mutwe, naawe onoobanga mukira. 05DEU028.045 Moreover all these curses shall come upon thee, and shall pursue thee, and overtake thee, till thou be destroyed; because thou hearkenedst not unto the voice of the LORD thy God, to keep his commandments and his statutes which he commanded thee: %%% Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw'olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n'amateeka ge bye yakulagira: 05DEU028.046 And they shall be upon thee for a sign and for a wonder, and upon thy seed for ever. %%% era binaabanga ku ggwe okuba akabonero n'ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna: 05DEU028.047 Because thou servedst not the LORD thy God with joyfulness, and with gladness of heart, for the abundance of all things; %%% kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n'essanyu era n'omutima ogujaguza, olw'ebintu byonna okuba ebingi: 05DEU028.048 Therefore shalt thou serve thine enemies which the LORD shall send against thee, in hunger, and in thirst, and in nakedness, and in want of all things: and he shall put a yoke of iron upon thy neck, until he have destroyed thee. %%% kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b'anaasindikanga okukulumba, ng'olumwa enjala n'ennyonta, era ng'oli bwereere, era ng'obulwa ebintu byonna: era anaateekanga ekikoligo eky'ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw'alimala okukuzikiriza. 05DEU028.049 The LORD shall bring a nation against thee from far, from the end of the earth, as swift as the eagle flieth; a nation whose tongue thou shalt not understand; %%% Mukama alikuleetako eggwanga ng'aliggya wala mu nkomerero y'ensi, ng'empungu bw'ebuuka; eggwanga ly'otolitegeera lulimi lwalyo; 05DEU028.050 A nation of fierce countenance, which shall not regard the person of the old, nor shew favour to the young: %%% eggwanga ery'obwenyi obukambwe, eritalitya maaso ga bakadde, so teririsaasira bato: 05DEU028.051 And he shall eat the fruit of thy cattle, and the fruit of thy land, until thou be destroyed: which also shall not leave thee either corn, wine, or oil, or the increase of thy kine, or flocks of thy sheep, until he have destroyed thee. %%% anaalyanga ebibala by'ensolo zo, n'ebibala by'ettaka lyo, okutuusa lw'olizikirizibwa: era eritalikulekera ŋŋaano, newakubadde envinnyo, newakubadde amafuta, ezzadde ly'ente zo, newakubadde abaana b'embuzi zo, okutuusa lw'alikuzikiriza: 05DEU028.052 And he shall besiege thee in all thy gates, until thy high and fenced walls come down, wherein thou trustedst, throughout all thy land: and he shall besiege thee in all thy gates throughout all thy land, which the LORD thy God hath given thee. %%% Era anaakuzingizanga mu miryango gyo gyonna, okutuusa enkomera zo empaavu eziriko ebigo ze weesiga lwe zirigwa mu nsi yo yonna: era alikuzingiza mu miryango gyo gyonna wmu nsi yo yonna, Mukama Katonda wo gy'akuwadde: 05DEU028.053 And thou shalt eat the fruit of thine own body, the flesh of thy sons and of thy daughters, which the LORD thy God hath given thee, in the siege, and in the straitness, wherewith thine enemies shall distress thee: %%% Era onoolyanga ebibala by'omubiri gwo ggwe, ennyama y'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo b'akuwadde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa abalabe bo kwe banaakuziyizanga; 05DEU028.054 So that the man that is tender among you, and very delicate, his eye shall be evil toward his brother, and toward the wife of his bosom, and toward the remnant of his children which he shall leave: %%% Omusajja omugonvu mu mmwe era omwenaanyi ennyo, eriiso lye linaabanga bbi eri muganda we n'eri omukazi ow'omu kifuba kye, n'eri abaana be abasigadde abakyaliwo: 05DEU028.055 So that he will not give to any of them of the flesh of his children whom he shall eat: because he hath nothing left him in the siege, and in the straitness, wherewith thine enemies shall distress thee in all thy gates. %%% n'obutawa n'atawa muntu yenna ku bo ku nnyama y'abaana be b'anaalyanga nga taliiko ekimusigalidde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo gyonna. 05DEU028.056 The tender and delicate woman among you, which would not adventure to set the sole of her foot upon the ground for delicateness and tenderness, her eye shall be evil toward the husband of her bosom, and toward her son, and toward her daughter, %%% Omukazi omugonvu mu mmwe era omwenaanyi, ataganya kulinnyisa ku ttaka kigere kye olw'okwenaanya n'obugonvu, eriiso lye linaabanga bbi eri bba ow'omu kifuba kye, n'eri mutabani we, n'eri muwala we; 05DEU028.057 And toward her young one that cometh out from between her feet, and toward her children which she shall bear: for she shall eat them for want of all things secretly in the siege and straitness, wherewith thine enemy shall distress thee in thy gates. %%% n'eri omwana we omuto afuluma wakati w'ebigere bye, n'eri abaana be b'alizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw'okubulwa ebintu byonna: mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo. 05DEU028.058 If thou wilt not observe to do all the words of this law that are written in this book, that thou mayest fear this glorious and fearful name, THE LORD THY GOD; %%% Bw'otookwatenga bigambo byonna eby'omu mateeka gano ebiwandiikiddwa mu kitabo kino okubikolanga, olyoke otyenga erinnya lino ery'ekitiibwa era ery'entiisa, Mukama Katonda wo; 05DEU028.059 Then the LORD will make thy plagues wonderful, and the plagues of thy seed, even great plagues, and of long continuance, and sore sicknesses, and of long continuance. %%% awo Mukama anaafuulanga ebibonyoobonyo eby'ekitalo, n'ebibonyoobonyo by'ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo. 05DEU028.060 Moreover he will bring upon thee all the diseases of Egypt, which thou wast afraid of; and they shall cleave unto thee. %%% Era anaakuleetangako nate endwadde zonna ez'e Misiri ze watyanga; era zineegattanga naawe. 05DEU028.061 Also every sickness, and every plague, which is not written in the book of this law, them will the LORD bring upon thee, until thou be destroyed. %%% Era na buli ndwadde na buli kibonyoobonyo ekitawandiikiddwa mu kitabo eky'amateeka gano, ebyo Mukama anaabikuleetangako, okutuusa lw'olizikirizibwa. 05DEU028.062 And ye shall be left few in number, whereas ye were as the stars of heaven for multitude; because thou wouldest not obey the voice of the LORD thy God. %%% Era mulisigalawo omuwendo gwammwe nga mutono, newakubadde nga mwali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu olw'obungi; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo. 05DEU028.063 And it shall come to pass, that as the LORD rejoiced over you to do you good, and to multiply you; so the LORD will rejoice over you to destroy you, and to bring you to nought; and ye shall be plucked from off the land whither thou goest to possess it. %%% Awo olunaatuukanga Mukama nga bwe yabasanyukirako okubakola obulungi n'okubaaza; bw'atyo Mukama anaabasanyukirangako okubazikiriza n’okubafaafaaganya; era munaggibwangako okuva ku nsi gy'oyingira okugirya. 05DEU028.064 And the LORD shall scatter thee among all people, from the one end of the earth even unto the other; and there thou shalt serve other gods, which neither thou nor thy fathers have known, even wood and stone. %%% Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna; okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n’amayinja. 05DEU028.065 And among these nations shalt thou find no ease, neither shall the sole of thy foot have rest: but the LORD shall give thee there a trembling heart, and failing of eyes, and sorrow of mind: %%% Era mu mawanga ago toliraba kwesiima kwonna, so n'ekigere kyo tekiibengako we kirinnya okuwummula: naye Mukama anaakuwanga omutima ogukankana, n'amaaso agaziba, n'emmeeme ekoozimba, 05DEU028.066 And thy life shall hang in doubt before thee; and thou shalt fear day and night, and shalt have none assurance of thy life: %%% n'obulamu bwo bunaabuusibwabuusibwanga mu maaso go; era onootyanga emisana n'ekiro, so toobengako kw'otegeerera obulamu bwo bwe bunaaba: 05DEU028.067 In the morning thou shalt say, Would God it were even! and at even thou shalt say, Would God it were morning! for the fear of thine heart wherewith thou shalt fear, and for the sight of thine eyes which thou shalt see. %%% enkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'okutya kw'omutima gwo kw'onootyanga, n'olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga. 05DEU028.068 And the LORD shall bring thee into Egypt again with ships, by the way whereof I spake unto thee, Thou shalt see it no more again: and there ye shall be sold unto your enemies for bondmen and bondwomen, and no man shall buy you. %%% Era Mukama alikuzza mu Misiri nate n'amaato, mu kkubo lye nnakugambako nti Toliriraba nate mulundi gwa kubiri: era eyo mulyetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu n'abazaana, so tewaabengawo muntu anaabagulanga. 05DEU029.001 These are the words of the covenant, which the LORD commanded Moses to make with the children of Israel in the land of Moab, beside the covenant which he made with them in Horeb. %%% Ebyo bye bigambo eby'endagaano Mukama gye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, obutassaako ndagaano gye yalagaana nabo ku Kolebu. 05DEU029.002 And Moses called unto all Israel, and said unto them, Ye have seen all that the LORD did before your eyes in the land of Egypt unto Pharaoh, and unto all his servants, and unto all his land; %%% Era Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Mwalaba byonna Mukama bye yakolera mu maaso gammwe mu nsi y'e Misiri eri Falaawo n'eri abaddu be bonna n'eri ensi ye yonna; 05DEU029.003 The great temptations which thine eyes have seen, the signs, and those great miracles: %%% okukema okukulu amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero biri ebikulu: 05DEU029.004 Yet the LORD hath not given you an heart to perceive, and eyes to see, and ears to hear, unto this day. %%% naye Mukama tabawadde mutima gwa kutegeera n'amaaso ag'okulaba n'amatu ag'okuwulira ne leero. 05DEU029.005 And I have led you forty years in the wilderness: your clothes are not waxen old upon you, and thy shoe is not waxen old upon thy foot. %%% Nange naakamaze emyaka ana nga mbakulembera mu ddungu: ebyambalo byammwe tebikaddiye ku mmwe, n'engatto yo tekaddiye ku kigere kyo. 05DEU029.006 Ye have not eaten bread, neither have ye drunk wine or strong drink: that ye might know that I am the LORD your God. %%% Temwalyanga ku mmere so temwanywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza: mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe: 05DEU029.007 And when ye came unto this place, Sihon the king of Heshbon, and Og the king of Bashan, came out against us unto battle, and we smote them: %%% Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka We Basani ne basitula okulwana naffe, ne tubatta: 05DEU029.008 And we took their land, and gave it for an inheritance unto the Reubenites, and to the Gadites, and to the half tribe of Manasseh. %%% ne tulya ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika ky'Abamanase, okuba obutaka. 05DEU029.009 Keep therefore the words of this covenant, and do them, that ye may prosper in all that ye do. %%% Kale mwekuumenga ebigambo eby'endagaano eno, mubikolenga; mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola. 05DEU029.010 Ye stand this day all of you before the LORD your God; your captains of your tribes, your elders, and your officers, with all the men of Israel, %%% Muyimiridde leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; abakulu bammwe, ebika byammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri, 05DEU029.011 Your little ones, your wives, and thy stranger that is in thy camp, from the hewer of thy wood unto the drawer of thy water: %%% abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne munnaggwanga wo ali wakati mu nsiisira zo; okuva ku mutyabi w'enku zo okutuuka ku musenyi w'amazzi go: 05DEU029.012 That thou shouldest enter into covenant with the LORD thy God, and into his oath, which the LORD thy God maketh with thee this day: %%% olagaane endagaano ya Mukama Katonda wo ne mu kirayiro kye, by'alagaana naawe leero: 05DEU029.013 That he may establish thee to day for a people unto himself, and that he may be unto thee a God, as he hath said unto thee, and as he hath sworn unto thy fathers, to Abraham, to Isaac, and to Jacob. %%% akunyweze leero gy'ali ye okubanga eggwanga, era abeerenga Katonda gy'oli, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. 05DEU029.014 Neither with you only do I make this covenant and this oath; %%% So siragaana ndagaano eno ne ndayira ekirayiro kino eri mmwe mwekka; 05DEU029.015 But with him that standeth here with us this day before the LORD our God, and also with him that is not here with us this day: %%% naye eri oyo ayimiridde wano awamu naffe leero mu maaso ga Mukama Katonda waffe, era n'eri oyo atali wano wamu naffe leero: 05DEU029.016 (For ye know how we have dwelt in the land of Egypt; and how we came through the nations which ye passed by; %%% (kubanga mumaayi bwe twatuulanga mu nsi y'e Misiri; era bwe twaggukira wakati mu mawanga ge mwayitamu; 05DEU029.017 And ye have seen their abominations, and their idols, wood and stone, silver and gold, which were among them:) %%% era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaanaayi byabwe, emiti n'amayinja, effeeza n'ezaabu, ebyali mu bo;) 05DEU029.018 Lest there should be among you man, or woman, or family, or tribe, whose heart turneth away this day from the LORD our God, to go and serve the gods of these nations; lest there should be among you a root that beareth gall and wormwood; %%% walemenga okuba mu mmwe omusajja oba mukazi oba nnyumba oba kika, akyamya omutima gwe leero okuva ku Mukama Katonda waffe, okugenda okuweereza bakatonda ab'amawanga gali; walemenga okuba mu mmwe ekikolo ekibala akalulwe ne abusinso; 05DEU029.019 And it come to pass, when he heareth the words of this curse, that he bless himself in his heart, saying, I shall have peace, though I walk in the imagination of mine heart, to add drunkenness to thirst: %%% era olunaatuukanga ng'awulira ebigambo eby'ekikolimo kino, ne yeenyumiriza mu mutima gwe, ng'ayogera nti Naabanga n'emirembe ne bwe nnaatambuliranga mu bukakanyavu bw'omutima gwange, okuzikiriza oyo atobye wamu n'omukalu: 05DEU029.020 The LORD will not spare him, but then the anger of the LORD and his jealousy shall smoke against that man, and all the curses that are written in this book shall lie upon him, and the LORD shall blot out his name from under heaven. %%% Mukama taamusonyiwenga; naye obusungu bwa Mukama n'obuggya bwe ne biryoka binyookera omusajja oyo, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuliggya wansi w'eggulu. 05DEU029.021 And the LORD shall separate him unto evil out of all the tribes of Israel, according to all the curses of the covenant that are written in this book of the law: %%% Era Mukama anaamwawuliranga obubi okumuggya mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'ebikolimo byonna bwe biri eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka. 05DEU029.022 So that the generation to come of your children that shall rise up after you, and the stranger that shall come from a far land, shall say, when they see the plagues of that land, and the sicknesses which the LORD hath laid upon it; %%% Era ezzadde eririddawo abaana bammwe abaliyimuka okubaddirira, ne munnaggwanga aliva mu nsi y'ewala, balyogera, bwe baliraba ebibonyoobonyo by'ensi eyo n'endwadde Mukama z'agirwazizza; 05DEU029.023 And that the whole land thereof is brimstone, and salt, and burning, that it is not sown, nor beareth, nor any grass groweth therein, like the overthrow of Sodom, and Gomorrah, Admah, and Zeboim, which the LORD overthrew in his anger, and in his wrath: %%% era ng'ensi yaayo yonna kibiriiti na munnyo na kusiriira, nga si nsige, so tebala, so n'omuddo gwonna tegumera omwo, ng'okusuulibwa kw'e Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yasuula mu busungu bwe ne mu kiruyi kye: 05DEU029.024 Even all nations shall say, Wherefore hath the LORD done thus unto this land? what meaneth the heat of this great anger? %%% amawanga gonna galyogera nti Mukama ekimukozezza ensi eno bwe kityo kiki? okwokya kw'obusungu buno obungi makulu ki? 05DEU029.025 Then men shall say, Because they have forsaken the covenant of the LORD God of their fathers, which he made with them when he brought them forth out of the land of Egypt: %%% Abantu ne balyoka boogera nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajja baabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri; 05DEU029.026 For they went and served other gods, and worshipped them, gods whom they knew not, and whom he had not given unto them: %%% ne bagenda ne baweereza bakatonda abalala, ne babasinza, bakatonda be baali tebamanyi, era be yali tabawadde 05DEU029.027 And the anger of the LORD was kindled against this land, to bring upon it all the curses that are written in this book: %%% obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino; 05DEU029.028 And the LORD rooted them out of their land in anger, and in wrath, and in great indignation, and cast them into another land, as it is this day. %%% kale Mukama n'abasimbula mu nsi yaabwe, mu busungu ne mu kiruyi ne mu kunyiiga okungi, n'abasuula mu nsi endala, nga leero. 05DEU029.029 The secret things belong unto the LORD our God: but those things which are revealed belong unto us and to our children for ever, that we may do all the words of this law. %%% Eby'ekyama biba bya Mukama Katobda waffe: naye ebibikkulibwa biba byaffe era bya baana baffe, emirembe gyonna; tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omu mateeka gano. 05DEU030.001 And it shall come to pass, when all these things are come upon thee, the blessing and the curse, which I have set before thee, and thou shalt call them to mind among all the nations, whither the LORD thy God hath driven thee, %%% Awo olunaatuukanga, ebyo byonna bwe birimala okukujjira, omukisa n'ekikolimo, bye ntadde mu maaso go, naawe bw'onoobijjukiranga mu mawanga gonna Mukama Katonda wo gy'akugobedde, 05DEU030.002 And shalt return unto the LORD thy God, and shalt obey his voice according to all that I command thee this day, thou and thy children, with all thine heart, and with all thy soul; %%% n'okomawo eri Mukama Katonda wo, n'ogondera eddoboozi lye nga byonna bwe biri bye nkulagira leero, ggwe n'abaana bo, n'omutima gwo gwonna, era n'emmeeme yo yonna; 05DEU030.003 That then the LORD thy God will turn thy captivity, and have compassion upon thee, and will return and gather thee from all the nations, whither the LORD thy God hath scattered thee. %%% Mukama Katonda wo n'alyoka akyusa okunyagibwa kwo; n'akusaasira, n'akomawo n'akukuŋŋaanya ng'akuggya mu mawanga gonna, Mukama Katonda wo gye yakusaasaanyiza. 05DEU030.004 If any of thine be driven out unto the outmost parts of heaven, from thence will the LORD thy God gather thee, and from thence will he fetch thee: %%% Omuntu yenna ku babo abaagobebwa bw'aba ng'ali mu nsonda z'eggulu, Mukama Katonda wo anaakuggyanga eyo okukukuŋŋaanya, era anaakukimanga eyo: 05DEU030.005 And the LORD thy God will bring thee into the land which thy fathers possessed, and thou shalt possess it; and he will do thee good, and multiply thee above thy fathers. %%% era Mukama Katonda wo anaakuyingizanga mu nsi bajjajja bo gye baalya, naawe oligirya; era alikukola bulungi, alikwaza okusinga bajjajja bo. 05DEU030.006 And the LORD thy God will circumcise thine heart, and the heart of thy seed, to love the LORD thy God with all thine heart, and with all thy soul, that thou mayest live. %%% Era Mukama Katonda wo alikukomola omutima, n'omutima gw'ezzadde lyo, okwagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, olyoke obe omulamu. 05DEU030.007 And the LORD thy God will put all these curses upon thine enemies, and on them that hate thee, which persecuted thee. %%% Era Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo, ne ku abo abaakukyawa, abaakuyigganyanga. 05DEU030.008 And thou shalt return and obey the voice of the LORD, and do all his commandments which I command thee this day. %%% Era olikomawo n'ogondera eddoboozi lya Mukama, n'okola ebiragiro bye byonna, bye nkulagira leero. 05DEU030.009 And the LORD thy God will make thee plenteous in every work of thine hand, in the fruit of thy body, and in the fruit of thy cattle, and in the fruit of thy land, for good: for the LORD will again rejoice over thee for good, as he rejoiced over thy fathers: %%% Era Mukama Katonda wo alikwaza mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo, mu bibala by'omubiri gwo, ne mu bibala by'ekisibo kyo, ne mu bibala by'ettaka lyo, olw'obulungi: kubanga Mukama alikusanyukirako nate olw'obulungi, nga bwe yasanyukira ku bajjajja bo: 05DEU030.010 If thou shalt hearken unto the voice of the LORD thy God, to keep his commandments and his statutes which are written in this book of the law, and if thou turn unto the LORD thy God with all thine heart, and with all thy soul. %%% oba ng'oligondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka; oba ng'olikyukira Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna. 05DEU030.011 For this commandment which I command thee this day, it is not hidden from thee, neither is it far off. %%% Kubanga ekiragiro kino kye nkulagira leero tekiiyinze kukukaluubirira, so tekiri wala. 05DEU030.012 It is not in heaven, that thou shouldest say, Who shall go up for us to heaven, and bring it unto us, that we may hear it, and do it? %%% Tekiri mu ggulu n'okwogera n'oyogera nti Ani anaatulinnyira mu ggulu, akituleetere, akituwulize, tulyoke tukikole? 05DEU030.013 Neither is it beyond the sea, that thou shouldest say, Who shall go over the sea for us, and bring it unto us, that we may hear it, and do it? %%% So tekiri mitala w'ennyanja n'okwogera n'oyogera nti Ani alituwungukira ennyanja; akituleetere, akituwulize, tulyoke tukikole? 05DEU030.014 But the word is very nigh unto thee, in thy mouth, and in thy heart, that thou mayest do it. %%% Naye ekigambo kikuli kumpi nnyo, mu kamwa ko ne mu mutima gwo olyoke okikolenga. 05DEU030.015 See, I have set before thee this day life and good, and death and evil; %%% Laba, leero ntadde mu maaso go obulamu n'obulungi, n'okufa n’obubi; 05DEU030.016 In that I command thee this day to love the LORD thy God, to walk in his ways, and to keep his commandments and his statutes and his judgments, that thou mayest live and multiply: and the LORD thy God shall bless thee in the land whither thou goest to possess it. %%% kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n'okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye, olyoke obenga omulamu oyalenga era Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu nsi gy'oyingira okugirya. 05DEU030.017 But if thine heart turn away, so that thou wilt not hear, but shalt be drawn away, and worship other gods, and serve them; %%% Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n'ogaana okuwulira, naye n'osendebwasendebwanga n'osinzanga bakatonda abalala n'obaweerezanga; 05DEU030.018 I denounce unto you this day, that ye shall surely perish, and that ye shall not prolong your days upon the land, whither thou passest over Jordan to go to possess it. %%% mbategeereza ddala leero nga temulirema kuzikirira; temulimala nnaku zammwe nnyingi ku nsi gy'osomokera Yoludaani okuyingira okugirya. 05DEU030.019 I call heaven and earth to record this day against you, that I have set before you life and death, blessing and cursing: therefore choose life, that both thou and thy seed may live: %%% Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo: 05DEU030.020 That thou mayest love the LORD thy God, and that thou mayest obey his voice, and that thou mayest cleave unto him: for he is thy life, and the length of thy days: that thou mayest dwell in the land which the LORD sware unto thy fathers, to Abraham, to Isaac, and to Jacob, to give them. %%% okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, n'okwegattanga naye: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo: olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, okubawa. 05DEU031.001 And Moses went and spake these words unto all Israel. %%% Awo Musa n'agenda n'abuulira Isiraeri yenna ebigambo ebyo. 05DEU031.002 And he said unto them, I am an hundred and twenty years old this day; I can no more go out and come in: also the LORD hath said unto me, Thou shalt not go over this Jordan. %%% N'abagamba nti Leero naakamaze emyaka kikumi mu abiri; sikyayinza kufuluma na kuyingira: era Mukama yaŋŋamba nti Tojja kusomoka Yoludaani ono. 05DEU031.003 The LORD thy God, he will go over before thee, and he will destroy these nations from before thee, and thou shalt possess them: and Joshua, he shall go over before thee, as the LORD hath said. %%% Mukama Katonda wo y'alikukulembera okusomoka; ye alizikiriza amawanga gano mu maaso go, naawe oligalya: era Yoswa y'alikukulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera. 05DEU031.004 And the LORD shall do unto them as he did to Sihon and to Og, kings of the Amorites, and unto the land of them, whom he destroyed. %%% Era Mukama alibakola nga bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b'Abamoli, n'ensi yaabwe; be yazikiriza. 05DEU031.005 And the LORD shall give them up before your face, that ye may do unto them according unto all the commandments which I have commanded you. %%% Era Mukama alibagabula mu maaso gammwe, nammwe mulibakola ng'ekiragiro kyonna bwe kiri kye mbalagidde. 05DEU031.006 Be strong and of a good courage, fear not, nor be afraid of them: for the LORD thy God, he it is that doth go with thee; he will not fail thee, nor forsake thee. %%% Beera n'amaanyi, guma omwoyo, totya so tobatekemukira kubanga Mukama Katonda wo ye wuuyo agenda naawe; taakulekenga so taakwabulirenga. 05DEU031.007 And Moses called unto Joshua, and said unto him in the sight of all Israel, Be strong and of a good courage: for thou must go with this people unto the land which the LORD hath sworn unto their fathers to give them; and thou shalt cause them to inherit it. %%% Awo Musa n'ayita Yoswa n’amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oligenda n'abantu bano mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okubawa; era oligibasisa. 05DEU031.008 And the LORD, he it is that doth go before thee; he will be with thee, he will not fail thee, neither forsake thee: fear not, neither be dismayed. %%% Mukama ye wuuyo abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga: totya so totekemuka. 05DEU031.009 And Moses wrote this law, and delivered it unto the priests the sons of Levi, which bare the ark of the covenant of the LORD, and unto all the elders of Israel. %%% Awo Musa n'awandiika amateeka gano n'agawa bakabona abaana ba Leevi, abaasitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'abakadde bonna aba Isiraeri. 05DEU031.010 And Moses commanded them, saying, At the end of every seven years, in the solemnity of the year of release, in the feast of tabernacles, %%% Awo Musa n'abalagira ng'ayogera nti Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka ogw'okusumululiramu, mu mbaga ey'ensiisira. 05DEU031.011 When all Israel is come to appear before the LORD thy God in the place which he shall choose, thou shalt read this law before all Israel in their hearing. %%% Isiraeri yenna nga bazze okulabikira mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza, onoosomeranga amateeka gano mu maaso ga Isiraeri yenna mu matu gaabwe. 05DEU031.012 Gather the people together, men, and women, and children, and thy stranger that is within thy gates, that they may hear, and that they may learn, and fear the LORD your God, and observe to do all the words of this law: %%% Okuŋŋaanyanga abantu; abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne munnaggwanga wo ali munda w'enzigi zo, bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka gano okubikola; 05DEU031.013 And that their children, which have not known any thing, may hear, and learn to fear the LORD your God, as long as ye live in the land whither ye go over Jordan to possess it. %%% era abaana baabwe; abatannamanya, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda wammwe, ennaku zonna nga mukyatuula mu nsi gye musomokera Yoludaani okugirya. 05DEU031.014 And the LORD said unto Moses, Behold, thy days approach that thou must die: call Joshua, and present yourselves in the tabernacle of the congregation, that I may give him a charge. And Moses and Joshua went, and presented themselves in the tabernacle of the congregation. %%% Mukama n'agamba Musa nti Laba, ennaku zo ziri kumpi kikugwanire okufa: yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire. Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu weema ey'okusisinkanirangamu. 05DEU031.015 And the LORD appeared in the tabernacle in a pillar of a cloud: and the pillar of the cloud stood over the door of the tabernacle. %%% Awo Mukama n'alabikira mu weema mu mpagi y'ekire: empagi y'ekire n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'eweema. 05DEU031.016 And the LORD said unto Moses, Behold, thou shalt sleep with thy fathers; and this people will rise up, and go a whoring after the gods of the strangers of the land, whither they go to be among them, and will forsake me, and break my covenant which I have made with them. %%% Mukama n'agamba Musa nti Laba, olyebaka ne bajjajja bo; n'abantu bano baligolokoka ne bagenda nga bayenda okugoberera bakatonda abalala ab'omu nsi, gye bagenda okubeeranga mu bo wakati, era balindeka ne bamenya endagaano yange gye nnalagaana nabo. 05DEU031.017 Then my anger shall be kindled against them in that day, and I will forsake them, and I will hide my face from them, and they shall be devoured, and many evils and troubles shall befall them; so that they will say in that day, Are not these evils come upon us, because our God is not among us? %%% Obusungu bwange ne bulyoka bubuubuuka ku bo ku lunaku luli, nange ndibaleka, era ndibakisa amaaso gange, era baliriibwa, n'obubi n'ennaku ennyingi biribajjira; n'okwogera ne boogera ku lunaku luli nti Obubi buno si kye buvudde butujjira kubanga Katonda waffe tali mu ffe? 05DEU031.018 And I will surely hide my face in that day for all the evils which they shall have wrought, in that they are turned unto other gods. %%% Era sirirema kukisa maaso gange ku lunaku luli olw'obubi bwonna bwe baliba nga bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala. 05DEU031.019 Now therefore write ye this song for you, and teach it the children of Israel: put it in their mouths, that this song may be a witness for me against the children of Israel. %%% Kale nno kaakano mwewandiikire oluyimba luno, era oluyigirize abaana ba Isiraeri: oluteeke mu bumwa bwabwe, oluyimba luno lubeerenga omujulirwa wange eri abaana ba Isiraeri. 05DEU031.020 For when I shall have brought them into the land which I sware unto their fathers, that floweth with milk and honey; and they shall have eaten and filled themselves, and waxen fat; then will they turn unto other gods, and serve them, and provoke me, and break my covenant. %%% Kubanga bwe ndiba nga mbayingizizza mu nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe baliba nga balidde ne bakkuta, ne bagejja; ne balyoka bakyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange. 05DEU031.021 And it shall come to pass, when many evils and troubles are befallen them, that this song shall testify against them as a witness; for it shall not be forgotten out of the mouths of their seed: for I know their imagination which they go about, even now, before I have brought them into the land which I sware. %%% Awo olulituuka, obubi bungi n'ennaku bwe biriba nga bibajjidde, oluyimba luno lulitegeeza mu maaso gaabwe ng'omujulirwa; kubanga terulyerabirwa okuva mu bumwa bw'ezzadde lyabwe: kubanga mmanyi okulowooza kwabwe kwe bagoberera, ne kaakano, nga sinnabayingiza mu nsi gye nnalayirira. 05DEU031.022 Moses therefore wrote this song the same day, and taught it the children of Israel. %%% Awo Musa n’awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza abaana ba Isiraeri. 05DEU031.023 And he gave Joshua the son of Nun a charge, and said, Be strong and of a good courage: for thou shalt bring the children of Israel into the land which I sware unto them: and I will be with thee. %%% N'alagira Yoswa omwana wa Nuni, n'ayogera nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oliyingiza abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira: nange n'abeeranga wamu naawe. 05DEU031.024 And it came to pass, when Moses had made an end of writing the words of this law in a book, until they were finished, %%% Awo olwatuuka, Musa bwe yamalira ddala okuwandiika ebigambo eby'amateeka gano mu kitabo, okutuusa lwe byaggwa, 05DEU031.025 That Moses commanded the Levites, which bare the ark of the covenant of the LORD, saying, %%% Musa n'alagira Abaleevi, abaasitulanga essanduuko y'endagaano ya Mukama ng'ayogera nti 05DEU031.026 Take this book of the law, and put it in the side of the ark of the covenant of the LORD your God, that it may be there for a witness against thee. %%% Muddire ekitabo kino eky'amateeka; mukiteeke ku mabbali g'essanduuko y'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga eyo okuba omujulirwa gy'oli. 05DEU031.027 For I know thy rebellion, and thy stiff neck: behold, while I am yet alive with you this day, ye have been rebellious against the LORD; and how much more after my death? %%% Kubanga mmanyi obujeemu bwo n'ensingo yo enkakanyavu: laba, nga nkyali mulamu nga nkyali wamu nammwe leero, mwabanga mwagala okujeemera Mukama; temulyeyongera nnyo nga mmaze okufa? 05DEU031.028 Gather unto me all the elders of your tribes, and your officers, that I may speak these words in their ears, and call heaven and earth to record against them. %%% Mukuŋŋaanyize gye ndi abakadde bonna ab'ebika byammwe, n'abaami bammwe, ndyoke njogerere ebigambo bino mu matu gaabwe, era mpite eggulu: n'ensi okuba abajulirwa gye bali. 05DEU031.029 For I know that after my death ye will utterly corrupt yourselves, and turn aside from the way which I have commanded you; and evil will befall you in the latter days; because ye will do evil in the sight of the LORD, to provoke him to anger through the work of your hands. %%% Kubanga mmanyi nga mulyeyonoonera ddala nga mmaze okufa, era mulikyama okuva mu kkubo lye nnabalagira; era obubi bulibabaako mu nnaku ez'enkomerero; kubanga mulikola ekiri mu maaso ga Mukama ekibi, okumusunguwaza olw'omulimu gw'emikono gyammwe. 05DEU031.030 And Moses spake in the ears of all the congregation of Israel the words of this song, until they were ended. %%% Era Musa n'ayogerera mu matu g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ebigambo eby'oluyimba luno, okutuusa lwe byaggwa. 05DEU032.001 Give ear, O ye heavens, and I will speak; and hear, O earth, the words of my mouth. %%% Wulira, ggwe eggulu, nange naayogera; N’ensi ewulire ebigambo by’akamwa kange: 05DEU032.002 My doctrine shall drop as the rain, my speech shall distil as the dew, as the small rain upon the tender herb, and as the showers upon the grass: %%% Okuyigiriza kwage kunaatonnya ng'enkuba, Okwogera kwange kunaagwa ng'omusulo; Ng'obukubakuba ku ssubi eggonvu, Era ng'oluwandaggirize ku muddo: 05DEU032.003 Because I will publish the name of the LORD: ascribe ye greatness unto our God. %%% Kubanga naatendera erinnya lya Mukama: Muwe obukulu, Katonda waffe. 05DEU032.004 He is the Rock, his work is perfect: for all his ways are judgment: a God of truth and without iniquity, just and right is he. %%% Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; Kubanga amakubo ge gonna musango: Katonda ow'obwesigwa atalina bubi, Wa mazima oyo era wa nsonga. 05DEU032.005 They have corrupted themselves, their spot is not the spot of his children: they are a perverse and crooked generation. %%% Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe: Gye mirembe emikakanyavu egyakyama. 05DEU032.006 Do ye thus requite the LORD, O foolish people and unwise? is not he thy father that hath bought thee? hath he not made thee, and established thee? %%% Bwe musasula Mukama bwe mutyo, Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakugula? Ye yakukola, ye yakunyweza ye. 05DEU032.007 Remember the days of old, consider the years of many generations: ask thy father, and he will shew thee; thy elders, and they will tell thee. %%% Jjukira ennaku ez’edda, Lowooza emyaka gy'emirembe emingi: Buuza kitaawo, anaakulaga; Abakadde bo, banaakubuulira. 05DEU032.008 When the Most High divided to the nations their inheritance, when he separated the sons of Adam, he set the bounds of the people according to the number of the children of Israel. %%% Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe, Bwe yayawula abaana b'abantu: Yassaawo ensalo z'amawanga Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri. 05DEU032.009 For the LORD's portion is his people; Jacob is the lot of his inheritance. %%% Kubanga omugabo gwa Mukama be bantu be; Yakobo: gwe muteeko gw'obusika bwe. 05DEU032.010 He found him in a desert land, and in the waste howling wilderness; he led him about, he instructed him, he kept him as the apple of his eye. %%% Yamusanga mu nsi ey'eddungu, Era mu kigumbo ekyereere ensolo we zikaabira; Yamwetooloolanga, Yamujjanjabanga. Yamukuumanga ng'emmunye y'eriiso lye: 05DEU032.011 As an eagle stirreth up her nest, fluttereth over her young, spreadeth abroad her wings, taketh them, beareth them on her wings: %%% Ng'empungu esaasaanya ekisu kyayo, Epaapaalira ku bwana bwayo, Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n'abatwala, N'abasitulira ku byoya bye, 05DEU032.012 So the LORD alone did lead him, and there was no strange god with him. %%% Mukama yekka Ye Yamukulembera, So tewabanga katonda, mulala wamu naye. 05DEU032.013 He made him ride on the high places of the earth, that he might eat the increase of the fields; and he made him to suck honey out of the rock, and oil out of the flinty rock; %%% Yamulinnyisa ku bifo ebigulumivu eby'ensi, N'alya eky’engera eky’ennimiro; N'amunuunyanga omubisi gw'enjuki okuva mu lwazi, N'amafuta okuva mu lwazi olw'embaalebaale; 05DEU032.014 Butter of kine, and milk of sheep, with fat of lambs, and rams of the breed of Bashan, and goats, with the fat of kidneys of wheat; and thou didst drink the pure blood of the grape. %%% Omuzigo gw'ente n'amata g'endiga, N'amasavu g'abaana b'endiga, N'endiga ennume ez'engeri ey'e Basani, n'embuzi emmandwa; N'eŋŋaano eya ssava ng'amasavu g'ensigo; N'onywanga omwenge oguva mu musaayi gw'omuzabbibu. 05DEU032.015 But Jeshurun waxed fat, and kicked: thou art waxen fat, thou art grown thick, thou art covered with fatness; then he forsook God which made him, and lightly esteemed the Rock of his salvation. %%% Naye Yesuluuni n'asavuwala, n'asamba: Wasavuwala, wanenewala, wafuuka munyirivu: N'alyoka aleka Katonda eyamukola, N'anyooma Olwazi olw'obulokozi bwe. 05DEU032.016 They provoked him to jealousy with strange gods, with abominations provoked they him to anger. %%% Baamukwasanga obuggya ne bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo. 05DEU032.017 They sacrificed unto devils, not to God; to gods whom they knew not, to new gods that came newly up, whom your fathers feared not. %%% Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda, Bakatonda be bataamanyanga, Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke, Bajjajja bammwe be bataatyanga. 05DEU032.018 Of the Rock that begat thee thou art unmindful, and hast forgotten God that formed thee. %%% Lwazi eyakuzaala tomujjukira, Era weerabidde Katonda eyakuzaala. 05DEU032.019 And when the LORD saw it, he abhorred them, because of the provoking of his sons, and of his daughters. %%% Mukama n'akiraba n'abatamwa Olw'okusunguwaza kwa batabani be ne bawala be. 05DEU032.020 And he said, I will hide my face from them, I will see what their end shall be: for they are a very froward generation, children in whom is no faith. %%% N'ayogera nti Naabakisa amaaso gange, Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba: Kubanga gye mirembe egy'ekyejo ekingi, Abaana omutali kukkiriza. 05DEU032.021 They have moved me to jealousy with that which is not God; they have provoked me to anger with their vanities: and I will move them to jealousy with those which are not a people; I will provoke them to anger with a foolish nation. %%% Bankwasanga obuggya n'ekyo ekitali Katonda; Bansunguwazanga n'ebigambo byabwe ebitaliimu: Nange ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga; Ndibasunguwaza n'eggwanga essirusiru. 05DEU032.022 For a fire is kindled in mine anger, and shall burn unto the lowest hell, and shall consume the earth with her increase, and set on fire the foundations of the mountains. %%% Kubanga omuliro gukoledde mu busungu bwange; Era gwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era gwokya ensi n'ekyengera kyayo, Era gukoleeza ensozi we zisibuka. 05DEU032.023 I will heap mischiefs upon them; I will spend mine arrows upon them. %%% Ndibatuumako obubi; Ndimalira obusaale bwange ku bo: 05DEU032.024 They shall be burnt with hunger, and devoured with burning heat, and with bitter destruction: I will also send the teeth of beasts upon them, with the poison of serpents of the dust. %%% Balikoozimba n'enjala, n'okwokya okungi kulibamalawo, N'okuzikirira okukambwe; N'amannyo g'ensolo ndibasindikira, N'obusagwa bw'ebyewalula eby'omu nfuufu. 05DEU032.025 The sword without, and terror within, shall destroy both the young man and the virgin, the suckling also with the man of gray hairs. %%% Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa, Ne mu bisenge entiisa; Kinaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi. 05DEU032.026 I said, I would scatter them into corners, I would make the remembrance of them to cease from among men: %%% Nayogera nti Nandibasaasaanyizza wala, Nandimazeeyo okujjukirwa kwabwe mu bantu: 05DEU032.027 Were it not that I feared the wrath of the enemy, lest their adversaries should behave themselves strangely, and lest they should say, Our hand is high, and the LORD hath not done all this. %%% Singa saatya kusunguwaza kwa mulabe, Abaabakyawa baleme okwerimba, Baleme okwogera nti Omukono gwaffe gugulumizibwa, Era Mukama si y'akoze bino byonna: 05DEU032.028 For they are a nation void of counsel, neither is there any understanding in them. %%% Kubanga lye ggwanga eritamanyi kuteesa bigambo, So temuli kutegeera mu bo. 05DEU032.029 O that they were wise, that they understood this, that they would consider their latter end! %%% Singa ba magezi ne bategeera Ne balowooza enkomerero yaabwe ey'oluvannyuma! 05DEU032.030 How should one chase a thousand, and two put ten thousand to flight, except their Rock had sold them, and the LORD had shut them up? %%% Omu yandigobye atya olukumi; N'ababiri bandiddusizza batya akakumi, Lwazi waabwe singa teyabatunda, Era Mukama singa teyabagabula? 05DEU032.031 For their rock is not as our Rock, even our enemies themselves being judges. %%% Kubanga olwazi lwabwe teruliŋŋanga olwazi lwaffe, Newakubadde abalabe baffe bennyini nga be basala omusango. 05DEU032.032 For their vine is of the vine of Sodom, and of the fields of Gomorrah: their grapes are grapes of gall, their clusters are bitter: %%% Kubanga omuzabbibu gwabwe gwava ku muzabbibu ogw'e Sodoma, Ne mu nnimiro ez'e Ggomola: Ezabbibu zaabwe zabbibu za mususa, Ebirimba byazo bikaawa: 05DEU032.033 Their wine is the poison of dragons, and the cruel venom of asps. %%% Omwenge gwabwe busagwa bwa misota, Era busagwa bukambwe bwa mbalasaasa. 05DEU032.034 Is not this laid up in store with me, and sealed up among my treasures? %%% Kino tekyaterekwa gye ndi, Nga kiteekeddwako akabonero mu bugagga bwange? 05DEU032.035 To me belongeth vengeance, and recompence; their foot shall slide in due time: for the day of their calamity is at hand, and the things that shall come upon them make haste. %%% Okuwalana kwange, n'okusasula, Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera: Kubanga olunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi: N'ebigenda okubajjira biryanguwa: 05DEU032.036 For the LORD shall judge his people, and repent himself for his servants, when he seeth that their power is gone, and there is none shut up, or left. %%% Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango; Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe. 05DEU032.037 And he shall say, Where are their gods, their rock in whom they trusted, %%% Era ayogera nti Bakatonda baabwe bali ludda wa, Olwazi lwe beesiganga; 05DEU032.038 Which did eat the fat of their sacrifices, and drank the wine of their drink offerings? let them rise up and help you, and be your protection. %%% Abaalyanga amasavu ag'essaddaaka zaabwe, Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo ekyokunywa. Bagolokoke bababeere, Babe ekigo kyammwe, 05DEU032.039 See now that I, even I, am he, and there is no god with me: I kill, and I make alive; I wound, and I heal: neither is there any that can deliver out of my hand. %%% Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda wamu nange: Nze nzita; era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya: So tewali ayinza okulokola okuggya mu mukono gwange: 05DEU032.040 For I lift up my hand to heaven, and say, I live for ever. %%% Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu, Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna, 05DEU032.041 If I whet my glittering sword, and mine hand take hold on judgment; I will render vengeance to mine enemies, and will reward them that hate me. %%% Bwe ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, Omukono gwange ne gukwata ku musango; Ndiwalana eggwanga ku balabe bange, Ndisasula abo abankyawa. 05DEU032.042 I will make mine arrows drunk with blood, and my sword shall devour flesh; and that with the blood of the slain and of the captives, from the beginning of revenges upon the enemy. %%% Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, N'ekitala kyange kirirya ennyama; N'omusaayi gw'abo abattibwa n'abawambe, Okuva ku mutwe gw'abo abakulembera abalabe, 05DEU032.043 Rejoice, O ye nations, with his people: for he will avenge the blood of his servants, and will render vengeance to his adversaries, and will be merciful unto his land, and to his people. %%% Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n’abantu be. Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alisasula abalabe be okubonerezebwa; Era alitangirira elisi ye, abantu be. 05DEU032.044 And Moses came and spake all the words of this song in the ears of the people, he, and Hoshea the son of Nun. %%% Musa n'ajja n'ayogerera ebigambo byonna eby'oluyimba luno mu matu g'abantu, ye ne Koseya omwana wa Nuni: 05DEU032.045 And Moses made an end of speaking all these words to all Israel: %%% Musa n'amalira ddala okwogera ebigambo ebyo byonna eri Isiraeri yenna: 05DEU032.046 And he said unto them, Set your hearts unto all the words which I testify among you this day, which ye shall command your children to observe to do, all the words of this law. %%% n'abagamba nti Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliragira abaana bammwe, okukwata ebigambo byonna eby'amateeka ago okubikolanga. 05DEU032.047 For it is not a vain thing for you; because it is your life: and through this thing ye shall prolong your days in the land, whither ye go over Jordan to possess it. %%% Kubanga si kigambo ekitaliimu gye muli kubanga bwe bulamu bwammwe, era olw'ekigambo ekyo kyemunaavanga muwangaala ennaku zammwe ku nsi gye musomokera Yoludaani okugirya. 05DEU032.048 And the LORD spake unto Moses that selfsame day, saying, %%% Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti 05DEU032.049 Get thee up into this mountain Abarim, unto mount Nebo, which is in the land of Moab, that is over against Jericho; and behold the land of Canaan, which I give unto the children of Israel for a possession: %%% Linnya ku lusozi luno Abalimu, ku lusozi Nebo, oluli mu nsi ya Mowaabu, olwolekera Yeriko; olengere ensi ya Kanani gye mpa abaana ba Isiraeri okuba obutaka: 05DEU032.050 And die in the mount whither thou goest up, and be gathered unto thy people; as Aaron thy brother died in mount Hor, and was gathered unto his people: %%% ofiire ku lusozi lw'olinnyako, okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo; nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'akuŋŋaanyizibwa eri abantu be: 05DEU032.051 Because ye trespassed against me among the children of Israel at the waters of MeribahKadesh, in the wilderness of Zin; because ye sanctified me not in the midst of the children of Israel. %%% kubanga mwansobyako wakati mu baana ba Isiraeri ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri. 05DEU032.052 Yet thou shalt see the land before thee; but thou shalt not go thither unto the land which I give the children of Israel. %%% Kubanga olirengera ensi mu maaso go; naye toligendayo mu nsi gye mpa abaana ba Isiraeri. 05DEU033.001 And this is the blessing, wherewith Moses the man of God blessed the children of Israel before his death. %%% Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa. 05DEU033.002 And he said, The LORD came from Sinai, and rose up from Seir unto them; he shined forth from mount Paran, and he came with ten thousands of saints: from his right hand went a fiery law for them. %%% N'ayogera nti Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, N'ava eri obukumi bw'abatukuvu: Ku mukono gwe ogwa ddyo kwaliko amateeka ag'omuliro gye bali: 05DEU033.003 Yea, he loved the people; all his saints are in thy hand: and they sat down at thy feet; every one shall receive of thy words. %%% Weewaawo, ayagala amawanga; Abatukuvu be bonna bali mu mukono gwo. Ne batuula ku bigere byo; Buli muntu aliweebwa ku bigambo byo. 05DEU033.004 Moses commanded us a law, even the inheritance of the congregation of Jacob. %%% Musa yatulagira amateeka, Obusika obw'ekibiina kya Yakobo. 05DEU033.005 And he was king in Jeshurun, when the heads of the people and the tribes of Israel were gathered together. %%% Era yali kabaka mu Yesuluni. Emitwe gy'abantu bwe baakuŋŋaanyizibwa, Ebika byonna ebya Isiraeri wamu: 05DEU033.006 Let Reuben live, and not die; and let not his men be few. %%% Lewubeeni abenga omulamu, alemenga okufa; Naye abasajja be babenga batono: 05DEU033.007 And this is the blessing of Judah: and he said, Hear, LORD, the voice of Judah, and bring him unto his people: let his hands be sufficient for him; and be thou an help to him from his enemies. %%% Era guno gwe mukisa gwa Yuda: n'ayogera nti Wulira Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omuyingize eri abantu be: N'emikono gye yeerwanirira; Era onoobanga mubeezi eri abalabe be. 05DEU033.008 And of Levi he said, Let thy Thummim and thy Urim be with thy holy one, whom thou didst prove at Massah, and with whom thou didst strive at the waters of Meribah; %%% Ne ku Leevi n'ayogera nti Sumimu wo ne Ulimu wo biri n'omusajja wo atya Katonda, Gwe wakemera e Masa, Gwe wawakana naye ku mazzi ag'e Meriba; 05DEU033.009 Who said unto his father and to his mother, I have not seen him; neither did he acknowledge his brethren, nor knew his own children: for they have observed thy word, and kept thy covenant. %%% Eyayogera ku kitaawe ne ku nnyina nti Simulabye; So teyakkiriza baganda be, So teyamanya baana be ye: Kubanga bakutte ekigambo kyo, Era beekuuma endagaano yo. 05DEU033.010 They shall teach Jacob thy judgments, and Israel thy law: they shall put incense before thee, and whole burnt sacrifice upon thine altar. %%% Banaayigirizanga Yakobo emisango gyo, Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go: Banaateekanga eby'okwoteza mu maaso go, N'ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba ku kyoto kyo. 05DEU033.011 Bless, LORD, his substance, and accept the work of his hands: smite through the loins of them that rise against him, and of them that hate him, that they rise not again. %%% Ebintu bye, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gye: Ofumitire ddala ebiwato byabwe abanaamugolokokerangako, N'abo abamukyawa balemenga okugolokoka nate. 05DEU033.012 And of Benjamin he said, The beloved of the LORD shall dwell in safety by him; and the Lord shall cover him all the day long, and he shall dwell between his shoulders. %%% Ku Benyamini n'ayogera nti Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era atuula wakati w'ebibegabega bye 05DEU033.013 And of Joseph he said, Blessed of the LORD be his land, for the precious things of heaven, for the dew, and for the deep that coucheth beneath, %%% Ne ku Yusufu n'ayogera nti Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'eby'omuwendo omungi eby'omu ggulu, olw'omusulo, N'olw'ennyanja egalamira wansi, 05DEU033.014 And for the precious fruits brought forth by the sun, and for the precious things put forth by the moon, %%% N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ebibala by'enjuba. N'olw'eby'omuwendo omungi ebiva mu kukula kw'emyezi, 05DEU033.015 And for the chief things of the ancient mountains, and for the precious things of the lasting hills, %%% N'olw'ebikulu eby'ensozi ez'edda, N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ensozi ezitaggwaawo. 05DEU033.016 And for the precious things of the earth and fulness thereof, and for the good will of him that dwelt in the bush: let the blessing come upon the head of Joseph, and upon the top of the head of him that was separated from his brethren. %%% N'olw'eby'omuweado omungi eby'ensi n'okujjula kwayo, N'ekisa ky'oyo eyatuula mu kisaka: Omukisa gujje ku mutwe gwa Yusufu, Ne ku bwezinge bw'omutwe gw'oyo eyayawulibwa ne baganda be. 05DEU033.017 His glory is like the firstling of his bullock, and his horns are like the horns of unicorns: with them he shall push the people together to the ends of the earth: and they are the ten thousands of Ephraim, and they are the thousands of Manasseh. %%% Ye nte ye embereberye, obukulu bwe bubwe; N'amayembe ge, mayembe ga mbogo: Aligasindisa amawanga gonna, enkomerero z'ensi: Era bwe bukumi bwa Efulayimu, Era ze nkumi za Manase. 05DEU033.018 And of Zebulun he said, Rejoice, Zebulun, in thy going out; and, Issachar, in thy tents. %%% Ne ku Zebbulooni n'ayogera nti Sanyuka, Zebbulooni; mu kufuluma kwo, Naawe, Isakaali, mu weema zo. 05DEU033.019 They shall call the people unto the mountain; there they shall offer sacrifices of righteousness: for they shall suck of the abundance of the seas, and of treasures hid in the sand. %%% Baliyita amawanga eri olusozi; Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez'obutuukirivu: Kubanga balinuuna okujjula kw'ennyanja, N'obugagga obukweke obw'omu musenyu. 05DEU033.020 And of Gad he said, Blessed be he that enlargeth Gad: he dwelleth as a lion, and teareth the arm with the crown of the head. %%% Ne ku Gaadi n'ayogera nti Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi; Atuula ng'empologoma enkazi, N'ataagula omukono; era obwezinge bw'omutwe. 05DEU033.021 And he provided the first part for himself, because there, in a portion of the lawgiver, was he seated; and he came with the heads of the people, he executed the justice of the LORD, and his judgments with Israel. %%% Ne yeeterekera omugabo ogw'olubereberye, Kubanga, eyo ekitundu eky'omugabi w'amateeka, kyaterekwa; N'ajja awamu n'emitwe gy'abantu, Yakola eby'obutuukirivu, ebya Mukama, N'emisango gye eri Isiraeri. 05DEU033.022 And of Dan he said, Dan is a lion's whelp: he shall leap from Bashan. %%% Ne ku Ddaani n'ayogera nti Ddaani mwana wa mpologoma, Abuuka okuva mu Basani. 05DEU033.023 And of Naphtali he said, O Naphtali, satisfied with favour, and full with the blessing of the LORD: possess thou the west and the south. %%% Ne ku Nafutaali n'ayogera nti Ggwe Nafutaali, akkuse obuganzi, Anyiye omukisa gwa Mukama: Ggwe lya obugwanjuba n'obukiika obwa ddyo. 05DEU033.024 And of Asher he said, Let Asher be blessed with children; let him be acceptable to his brethren, and let him dip his foot in oil. %%% Ne ku Aseri n'ayogera nti Aseri aweebwe omukisa gw'abaana; Asiimibwenga baganda be. Era annyikenga ekigere kye mu mafuta 05DEU033.025 Thy shoes shall be iron and brass; and as thy days, so shall thy strength be. %%% Ebisiba byo binaabanga kyuma na lukomo; Era ng'ennaku zo, amaanyi go bwe ganaabanga bwe gatyo. 05DEU033.026 There is none like unto the God of Jeshurun, who rideth upon the heaven in thy help, and in his excellency on the sky. %%% Tewali afaanana Katonda, ggwe Yesuluni, Eyeebagala ku ggulu olw'okukubeera, Era ku bbanga mu bukulu bwe obusinga: 05DEU033.027 The eternal God is thy refuge, and underneath are the everlasting arms: and he shall thrust out the enemy from before thee; and shall say, Destroy them. %%% Katonda ataggwaawo kye kifo ky'otuulamu, Era emikono egitaggwaawo gikuwanirira: Naasimbulamu abalabe mu maaso go, Naayogera nti Zikiriza. 05DEU033.028 Israel then shall dwell in safety alone: the fountain of Jacob shall be upon a land of corn and wine; also his heavens shall drop down dew. %%% Era Isiraeri atuula mirembe, Oluzzi lwa Yakobo luli lwokka, Mu nsi ey'eŋŋaano n'omwenge; Weewaawo, eggulu lye litonnya omusulo. 05DEU033.029 Happy art thou, O Israel: who is like unto thee, O people saved by the LORD, the shield of thy help, and who is the sword of thy excellency! and thine enemies shall be found liars unto thee; and thou shalt tread upon their high places. %%% Olina omukisa ggwe Isiraeri: Ani akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Engabo ey'okubeerwa kwo, Era kye kitala eky'obukulu bwo obusinga! Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olirinnya ku bifo byabwe ebya waggulu. 05DEU034.001 And Moses went up from the plains of Moab unto the mountain of Nebo, to the top of Pisgah, that is over against Jericho. And the LORD shewed him all the land of Gilead, unto Dan, %%% Awo Musa n'ava mu nsenyi za Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko: Mukama n'amulaga ensi yonna eye Giriyaadi okutuusa ku Ddaani; 05DEU034.002 And all Naphtali, and the land of Ephraim, and Manasseh, and all the land of Judah, unto the utmost sea, %%% ne Nafutaali yonna, n'ensi, ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja ey'emabega; 05DEU034.003 And the south, and the plain of the valley of Jericho, the city of palm trees, unto Zoar. %%% n'Obukiika obwa ddyo, n'Olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko ekibuga eky'enkindu okutuusa ku Zowaali. 05DEU034.004 And the LORD said unto him, This is the land which I sware unto Abraham, unto Isaac, and unto Jacob, saying, I will give it unto thy seed: I have caused thee to see it with thine eyes, but thou shalt not go over thither. %%% Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo nkugirengezezza n'amaaso go, naye tolisomoka kugendayo. 05DEU034.005 So Moses the servant of the LORD died there in the land of Moab, according to the word of the LORD. %%% Awo Musa omuddu wa Mukama n'afiira eyo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali. 05DEU034.006 And he buried him in a valley in the land of Moab, over against Bethpeor: but no man knoweth of his sepulchre unto this day. %%% N'amuziika mu kiwonvu mu nsi ya Mowaabu awoolekera e Besupyoli: naye tewali muntu amanyi amalaalo ge ne leero. 05DEU034.007 And Moses was an hundred and twenty years old when he died: his eye was not dim, nor his natural force abated. %%% Era Musa yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri bwe yafa; eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko. 05DEU034.008 And the children of Israel wept for Moses in the plains of Moab thirty days: so the days of weeping and mourning for Moses were ended. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Musa amaziga mu nsenyi za Mowaabu ennaku asatu kale ennaku ez'okukaabiramu nga banakuwalira Musa ne ziggwa. 05DEU034.009 And Joshua the son of Nun was full of the spirit of wisdom; for Moses had laid his hands upon him: and the children of Israel hearkened unto him, and did as the LORD commanded Moses. %%% Era Yoswa omwana wa Nuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. 05DEU034.010 And there arose not a prophet since in Israel like unto Moses, whom the LORD knew face to face, %%% Era tewannayimuka mu Isiraeri nabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya ng'alabagana n'amaaso: 05DEU034.011 In all the signs and the wonders, which the LORD sent him to do in the land of Egypt to Pharaoh, and to all his servants, and to all his land, %%% mu bubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna, n'eri ensi ye yonna; 05DEU034.012 And in all that mighty hand, and in all the great terror which Moses shewed in the sight of all Israel. %%% ne mu mukono ogwo gwonna ogw'amaanyi, ne mu ntiisa eyo yonna ennene, Musa gye yakoleranga mu maaso ga Isiraeri yenna. 06JOS001.001 Now after the death of Moses the servant of the LORD it came to pass, that the LORD spake unto Joshua the son of Nun, Moses' minister, saying, %%% Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa, omwana wa Nuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti 06JOS001.002 Moses my servant is dead; now therefore arise, go over this Jordan, thou, and all this people, unto the land which I do give to them, even to the children of Israel. %%% Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe, n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri. 06JOS001.003 Every place that the sole of your foot shall tread upon, that have I given unto you, as I said unto Moses. %%% Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnagamba Musa. 06JOS001.004 From the wilderness and this Lebanon even unto the great river, the river Euphrates, all the land of the Hittites, and unto the great sea toward the going down of the sun, shall be your coast. %%% Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, gwe mugga Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba ensalo yammwe. 06JOS001.005 There shall not any man be able to stand before thee all the days of thy life: as I was with Moses, so I will be with thee: I will not fail thee, nor forsake thee. %%% Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo: nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga. 06JOS001.006 Be strong and of a good courage: for unto this people shalt thou divide for an inheritance the land, which I sware unto their fathers to give them. %%% Ddamu amaanyi guma omwoyo: kubanga ggwe olibasikiza abantu bano ensi eno gye nnalayirira bajja baabwe okugibawa. 06JOS001.007 Only be thou strong and very courageous, that thou mayest observe to do according to all the law, which Moses my servant commanded thee: turn not from it to the right hand or to the left, that thou mayest prosper whithersoever thou goest. %%% Naye mala okuddamu amaanyi n'okuguma ennyo omwoyo, okwekuumanga okukola ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange ge yakulagira: tokyamanga okugaleka ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna. 06JOS001.008 This book of the law shall not depart out of thy mouth; but thou shalt meditate therein day and night, that thou mayest observe to do according to all that is written therein: for then thou shalt make thy way prosperous, and then thou shalt have good success. %%% Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw'onooterezanga bw'otyo ekkubo lyo, era bw'onooweebwanga omukisa bw'otyo. 06JOS001.009 Have not I commanded thee? Be strong and of a good courage; be not afraid, neither be thou dismayed: for the LORD thy God is with thee whithersoever thou goest. %%% Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna. 06JOS001.010 Then Joshua commanded the officers of the people, saying, %%% Yoswa n'alyoka alagira abaami b'abantu, ng'ayogera nti 06JOS001.011 Pass through the host, and command the people, saying, Prepare you victuals; for within three days ye shall pass over this Jordan, to go in to possess the land, which the LORD your God giveth you to possess it. %%% Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu, nga mwogera nti Mweteekereteekere emmere; kubanga ennaku essatu nga tezinnayita mugenda, okusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugirya. 06JOS001.012 And to the Reubenites, and to the Gadites, and to half the tribe of Manasseh, spake Joshua, saying, %%% Era Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase Yoswa n'abagamba, ng'ayogera nti 06JOS001.013 Remember the word which Moses the servant of the LORD commanded you, saying, The LORD your God hath given you rest, and hath given you this land. %%% Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabalagira, ng'ayogera nti Mukama Katonda wammwe abawa ekiwummulo, era alibawa ensi eno. 06JOS001.014 Your wives, your little ones, and your cattle, shall remain in the land which Moses gave you on this side Jordan; but ye shall pass before your brethren armed, all the mighty men of valour, and help them; %%% Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balituula mu nsi Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye mmwe mulisomoka mu maaso ga baganda bammwe nga mulina eby'okulwanyisa, abazira mwenna ab'amaanyi, mulibabeera; 06JOS001.015 Until the LORD have given your brethren rest, as he hath given you, and they also have possessed the land which the LORD your God giveth them: then ye shall return unto the land of your possession, and enjoy it, which Moses the LORD's servant gave you on this side Jordan toward the sunrising. %%% okutuusa Mukama lw'alimala okubawa baganda bammwe ekiwummulo, nga bw'awadde mmwe, era nabo lwe balimala okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa bo: ne mulyoka muddayo mu nsi gye mwalya, mugirye, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba. 06JOS001.016 And they answered Joshua, saying, All that thou commandest us we will do, and whithersoever thou sendest us, we will go. %%% Ne bamuddamu Yoswa, nga boogera nti Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga. 06JOS001.017 According as we hearkened unto Moses in all things, so will we hearken unto thee: only the LORD thy God be with thee, as he was with Moses. %%% Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo: kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa. 06JOS001.018 Whosoever he be that doth rebel against thy commandment, and will not hearken unto thy words in all that thou commandest him, he shall be put to death: only be strong and of a good courage. %%% Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga: naye ddamu amaanyi, guma omwoyo. 06JOS002.001 And Joshua the son of Nun sent out of Shittim two men to spy secretly, saying, Go view the land, even Jericho. And they went, and came into an harlot's house, named Rahab, and lodged there. %%% Yoswa omwana wa Nuni n'atuma abantu babiri nkiso okuva mu Sittimu okuketta, ng'ayogera nti Mugende, mukebere ensi ne Yeriko. Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo. 06JOS002.002 And it was told the king of Jericho, saying, Behold, there came men in hither to night of the children of Israel to search out the country. %%% Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi. 06JOS002.003 And the king of Jericho sent unto Rahab, saying, Bring forth the men that are come to thee, which are entered into thine house: for they be come to search out all the country. %%% Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo: kubanga bazze okuketta ensi yonna. 06JOS002.004 And the woman took the two men, and hid them, and said thus, There came men unto me, but I wist not whence they were: %%% Omukazi n'abatwala bombi, n'abakisa; n'ayogera nti Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nabadde simanyi gye bavudde. 06JOS002.005 And it came to pass about the time of shutting of the gate, when it was dark, that the men went out: whither the men went I wot not: pursue after them quickly; for ye shall overtake them. %%% awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda: abantu gye bazze simanyi: mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako. 06JOS002.006 But she had brought them up to the roof of the house, and hid them with the stalks of flax, which she had laid in order upon the roof. %%% Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako emiti egy'obugoogwa, gye yali ateeseteese obulungi ku kasolya. 06JOS002.007 And the men pursued after them the way to Jordan unto the fords: and as soon as they which pursued after them were gone out, they shut the gate. %%% Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko: abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki. 06JOS002.008 And before they were laid down, she came up unto them upon the roof; %%% Bo nga tebanneebaka; n'alinnya gye bali ku kasolya; 06JOS002.009 And she said unto the men, I know that the LORD hath given you the land, and that your terror is fallen upon us, and that all the inhabitants of the land faint because of you. %%% n'agamba abantu nti Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna basaanuuka mu maaso gammwe. 06JOS002.010 For we have heard how the LORD dried up the water of the Red sea for you, when ye came out of Egypt; and what ye did unto the two kings of the Amorites, that were on the other side Jordan, Sihon and Og, whom ye utterly destroyed. %%% Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi; be mwazikiririza ddala. 06JOS002.011 And as soon as we had heard these things, our hearts did melt, neither did there remain any more courage in any man, because of you: for the LORD your God, he is God in heaven above, and in earth beneath. %%% Naffe bwe twakiwulira emitima gyaffe ne giryoka gisaanuuka; so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna ku lwammwe: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi. 06JOS002.012 Now therefore, I pray you, swear unto me by the LORD, since I have shewed you kindness, that ye will also shew kindness unto my father's house, and give me a true token: %%% Kale kaakati, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero ak'amazima: 06JOS002.013 And that ye will save alive my father, and my mother, and my brethren, and my sisters, and all that they have, and deliver our lives from death. %%% era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa. 06JOS002.014 And the men answered her, Our life for yours, if ye utter not this our business. And it shall be, when the LORD hath given us the land, that we will deal kindly and truly with thee. %%% Abantu ne bamugamba nti Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe, bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima. 06JOS002.015 Then she let them down by a cord through the window: for her house was upon the town wall, and she dwelt upon the wall. %%% Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwatanye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeera ku bbugwe. 06JOS002.016 And she said unto them, Get you to the mountain, lest the pursuers meet you; and hide yourselves there three days, until the pursuers be returned: and afterward may ye go your way. %%% N'abagamba nti Mugende ku lusozi, abaabagoberedde baleme okubasanga: era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda. 06JOS002.017 And the men said unto her, We will be blameless of this thine oath which thou hast made us swear. %%% Abantu ne bamugamba nti Tetulina musango ku kirayiro kyo kino ky'otulayizizza. 06JOS002.018 Behold, when we come into the land, thou shalt bind this line of scarlet thread in the window which thou didst let us down by: and thou shalt bring thy father, and thy mother, and thy brethren, and all thy father's household, home unto thee. %%% Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu: era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo. 06JOS002.019 And it shall be, that whosoever shall go out of the doors of thy house into the street, his blood shall be upon his head, and we will be guiltless: and whosoever shall be with thee in the house, his blood shall be on our head, if any hand be upon him. %%% Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango: era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna: 06JOS002.020 And if thou utter this our business, then we will be quit of thine oath which thou hast made us to swear. %%% Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza. 06JOS002.021 And she said, According unto your words, so be it. And she sent them away, and they departed: and she bound the scarlet line in the window. %%% N'ayogera nti Wabe ng'ebigambo byammwe bwe biri. N'abasindika, ne bagenda n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa. 06JOS002.022 And they went, and came unto the mountain, and abode there three days, until the pursuers were returned: and the pursuers sought them throughout all the way, but found them not. %%% Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba: 06JOS002.023 So the two men returned, and descended from the mountain, and passed over, and came to Joshua the son of Nun, and told him all things that befell them: %%% Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako. 06JOS002.024 And they said unto Joshua, Truly the LORD hath delivered into our hands all the land; for even all the inhabitants of the country do faint because of us. %%% Ne bamugamba Yoswa nti Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna basaanuukira ddala mu maaso gaffe. 06JOS003.001 And Joshua rose early in the morning; and they removed from Shittim, and came to Jordan, he and all the children of Israel, and lodged there before they passed over. %%% Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka. 06JOS003.002 And it came to pass after three days, that the officers went through the host; %%% Awo ennaku ssatu bwe zaayita abaami ne bayita wakati mu lusiisira; 06JOS003.003 And they commanded the people, saying, When ye see the ark of the covenant of the LORD your God, and the priests the Levites bearing it, then ye shall remove from your place, and go after it. %%% ne balagira abantu, nga boogera nti Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe; ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera. 06JOS003.004 Yet there shall be a space between you and it, about two thousand cubits by measure: come not near unto it, that ye may know the way by which ye must go: for ye have not passed this way heretofore. %%% Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo; ng'emikono enkumi bbiri gigerebwa: temugisemberera, muyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okutuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino. 06JOS003.005 And Joshua said unto the people, Sanctify yourselves: for to morrow the LORD will do wonders among you. %%% Yoswa n'agamba abantu nti Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola eby'amagero mu mmwe. 06JOS003.006 And Joshua spake unto the priests, saying, Take up the ark of the covenant, and pass over before the people. And they took up the ark of the covenant, and went before the people. %%% Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti musitule essanduuko ey'endagaano, musomoke mukulembere abantu. Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu. 06JOS003.007 And the LORD said unto Joshua, This day will I begin to magnify thee in the sight of all Israel, that they may know that, as I was with Moses, so I will be with thee. %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe. 06JOS003.008 And thou shalt command the priests that bear the ark of the covenant, saying, When ye are come to the brink of the water of Jordan, ye shall stand still in Jordan. %%% Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu Yoludaani. 06JOS003.009 And Joshua said unto the children of Israel, Come hither, and hear the words of the LORD your God. %%% Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mujje wano, muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe. 06JOS003.010 And Joshua said, Hereby ye shall know that the living God is among you, and that he will without fail drive out from before you the Canaanites, and the Hittites, and the Hivites, and the Perizzites, and the Girgashites, and the Amorites, and the Jebusites. %%% Yoswa n'ayogera nti Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi. 06JOS003.011 Behold, the ark of the covenant of the LORD of all the earth passeth over before you into Jordan. %%% Laba, essanduuko ey'endagaano ya Mukama w'ensi zonna, ebakulembera okusomoka Yoludaani. 06JOS003.012 Now therefore take you twelve men out of the tribes of Israel, out of every tribe a man. %%% Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bika bya Isiraeri, buli kika omu. 06JOS003.013 And it shall come to pass, as soon as the soles of the feet of the priests that bear the ark of the LORD, the LORD of all the earth, shall rest in the waters of Jordan, that the waters of Jordan shall be cut off from the waters that come down from above; and they shall stand upon an heap. %%% Owo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gaggwaawo, ge mazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu. 06JOS003.014 And it came to pass, when the people removed from their tents, to pass over Jordan, and the priests bearing the ark of the covenant before the people; %%% Awo, abantu bwe baava mu weema zaabwe, okusomoka Yoludaani, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano nga bakulembedde abantu; 06JOS003.015 And as they that bare the ark were come unto Jordan, and the feet of the priests that bare the ark were dipped in the brim of the water, (for Jordan overfloweth all his banks all the time of harvest,) %%% era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula,) 06JOS003.016 That the waters which came down from above stood and rose up upon an heap very far from the city Adam, that is beside Zaretan: and those that came down toward the sea of the plain, even the salt sea, failed, and were cut off: and the people passed over right against Jericho. %%% amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne geekuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani: n'ago agakka ku nnyanja eye Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala: abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko. 06JOS003.017 And the priests that bare the ark of the covenant of the LORD stood firm on dry ground in the midst of Jordan, and all the Israelites passed over on dry ground, until all the people were passed clean over Jordan. %%% Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani. 06JOS004.001 And it came to pass, when all the people were clean passed over Jordan, that the LORD spake unto Joshua, saying, %%% Awo eggwanga lyonna bwe lyamala okuyitira ddala mu Yoludaani, Mukama n'agamba Yoswa, ng'ayogera nti 06JOS004.002 Take you twelve men out of the people, out of every tribe a man, %%% Mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bantu, mu buli kika omu, 06JOS004.003 And command ye them, saying, Take you hence out of the midst of Jordan, out of the place where the priests' feet stood firm, twelve stones, and ye shall carry them over with you, and leave them in the lodging place, where ye shall lodge this night. %%% era mubalagire, nga mwogera nti Mulonde wano wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona mwe byanyweredde, amayinja kkumi n'abiri, mugasomose, mugasse mu kisulo, kye munaasulamu ekiro kino. 06JOS004.004 Then Joshua called the twelve men, whom he had prepared of the children of Israel, out of every tribe a man: %%% Awo Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri, be yateekateeka mu baana ba Isiraeri, mu buli kika omu. 06JOS004.005 And Joshua said unto them, Pass over before the ark of the LORD your God into the midst of Jordan, and take you up every man of you a stone upon his shoulder, according unto the number of the tribes of the children of Israel: %%% Yoswa n'abagamba nti Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, musitule buli muntu mu mmwe ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli: 06JOS004.006 That this may be a sign among you, that when your children ask their fathers in time to come, saying, What mean ye by these stones? %%% ako kabe akabonero mu mmwe, abaana bammwe bwe banaabuuzanga mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amayinja gano amakulu gaago ki? 06JOS004.007 Then ye shall answer them, That the waters of Jordan were cut off before the ark of the covenant of the LORD; when it passed over Jordan, the waters of Jordan were cut off: and these stones shall be for a memorial unto the children of Israel for ever. %%% mulyoke mubagambe nti Kubanga amazzi ga Yoludaani gaggwaawo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama; bwe yayita mu Yoludaani, amazzi ne gaggwaawo: era amayinja gano galibeera ekijjuukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo. 06JOS004.008 And the children of Israel did so as Joshua commanded, and took up twelve stones out of the midst of Jordan, as the LORD spake unto Joshua, according to the number of the tribes of the children of Israel, and carried them over with them unto the place where they lodged, and laid them down there. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bw'abalagidde, ne balonda amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagatuusa mu kifo mwe baasula, ne bagassaawo. 06JOS004.009 And Joshua set up twelve stones in the midst of Jordan, in the place where the feet of the priests which bare the ark of the covenant stood: and they are there unto this day. %%% Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira: era weegali ne kaakano. 06JOS004.010 For the priests which bare the ark stood in the midst of Jordan, until everything was finished that the LORD commanded Joshua to speak unto the people, according to all that Moses commanded Joshua: and the people hasted and passed over. %%% Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa: abantu ne banguwa ne bayita. 06JOS004.011 And it came to pass, when all the people were clean passed over, that the ark of the LORD passed over, and the priests, in the presence of the people. %%% Awo, abantu bonna bwe baamala okuyita, essanduuko ya Mukama n'eryoka eyita, ne bakabona mu maaso g'abantu. 06JOS004.012 And the children of Reuben, and the children of Gad, and half the tribe of Manasseh, passed over armed before the children of Israel, as Moses spake unto them: %%% N'abaana ba Lewubeeni; n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri ne bayita nga balina ekyokulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba: 06JOS004.013 About forty thousand prepared for war passed over before the LORD unto battle, to the plains of Jericho. %%% abantu ng'obukumi buna abeeteeseteese okulwana ne bayita mu maaso ga Mukama eri olutalo, mu lusenyi olw'e Yeriko: 06JOS004.014 On that day the LORD magnified Joshua in the sight of all Israel; and they feared him, as they feared Moses, all the days of his life. %%% Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso ga Baisiraeri bonna: ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa; ennaku zonna ez'obulamu bwe. 06JOS004.015 And the LORD spake unto Joshua, saying, %%% Mukama n'agamba Yoswa ng'ayogera nti 06JOS004.016 Command the priests that bear the ark of the testimony, that they come up out of Jordan. %%% Lagira bakabona abasitula essanduuko ey'obujulirwa okulinnya okuva mu Yoludaani: 06JOS004.017 Joshua therefore commanded the priests, saying, Come ye up out of Jordan. %%% Awo Yoswa n'alagira bakabona ng'ayogera nti Mulinnye muve mu Yoludaani: 06JOS004.018 And it came to pass, when the priests that bare the ark of the covenant of the LORD were come up out of the midst of Jordan, and the soles of the priests' feet were lifted up unto the dry land, that the waters of Jordan returned unto their place, and flowed over all his banks, as they did before. %%% Awo bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okulinnya okuva wakati mu Yoludaani, n'ebigere bya bakabona ne birinnyibwa ku lukalu, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gadda mu kifo kyago, ne gayanjaala ku ttale lyagwo lyonna, ng'edda. 06JOS004.019 And the people came up out of Jordan on the tenth day of the first month, and encamped in Gilgal, in the east border of Jericho. %%% Abantu ne balinnya ne bava mu Yoludaani ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogw'olubereberye ne basula mu Girugaali, mu nsalo ey'ebuvanjuba ey'e Yeriko. 06JOS004.020 And those twelve stones, which they took out of Jordan, did Joshua pitch in Gilgal. %%% N'amayinja gali ekkumi n'abiri ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali. 06JOS004.021 And he spake unto the children of Israel, saying, When your children shall ask their fathers in time to come, saying, What mean these stones? %%% N'agamba abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amakulu g'amayinja gano ki? 06JOS004.022 Then ye shall let your children know, saying, Israel came over this Jordan on dry land. %%% ne mulyoka mutegeezanga abaana bammwe; nga mwogera nti Abaisiraeri baayita mu Yoludaani muno nga lukalu: 06JOS004.023 For the LORD your God dried up the waters of Jordan from before you, until ye were passed over, as the LORD your God did to the Red sea, which he dried up from before us, until we were gone over: %%% Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okuyita; nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe; okutuuka bwe twamala okuyita: 06JOS004.024 That all the people of the earth might know the hand of the LORD, that it is mighty: that ye might fear the LORD your God for ever. %%% amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo. 06JOS005.001 And it came to pass, when all the kings of the Amorites, which were on the side of Jordan westward, and all the kings of the Canaanites, which were by the sea, heard that the LORD had dried up the waters of Jordan from before the children of Israel, until we were passed over, that their heart melted, neither was there spirit in them any more, because of the children of Israel. %%% Awo bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba; ne bakabona ab'Abakanani, abaali ku nnyanja, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okutuuka bwe twamala okusomoka, omutima gwabwe ne gusaanuuka, so nga tewakyali alina omwoyo mu bo; olw'abaana ba Isiraeri. 06JOS005.002 At that time the LORD said unto Joshua, Make thee sharp knives, and circumcise again the children of Israel the second time. %%% Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti Weekolere obwambe obw'amayinja, okomole nate abaana ba Isiraeri omulundi ogw'okubiri. 06JOS005.003 And Joshua made him sharp knives, and circumcised the children of Israel at the hill of the foreskins. %%% Yoswa ne yeekolera obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi olw'ebikuta. 06JOS005.004 And this is the cause why Joshua did circumcise: All the people that came out of Egypt, that were males, even all the men of war, died in the wilderness by the way, after they came out of Egypt. %%% Era eno ye nsonga eyabakomoza Yoswa: abasajja bonna abaava mu Misiri, abalwanyi bonna, ne bafiira mu ddungu mu kkubo, bwe baamala okuva mu Misiri. 06JOS005.005 Now all the people that came out were circumcised: but all the people that were born in the wilderness by the way as they came forth out of Egypt, them they had not circumcised. %%% Kubanga abantu bonna abaavaayo ne bakomolwa: naye abantu bonna abaazaalirwa mu ddungu mu kkubo nga bava mu Misiri nga tebakomolwanga. 06JOS005.006 For the children of Israel walked forty years in the wilderness, till all the people that were men of war, which came out of Egypt, were consumed, because they obeyed not the voice of the LORD: unto whom the LORD sware that he would not shew them the land, which the LORD sware unto their fathers that he would give us, a land that floweth with milk and honey. %%% Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka amakumi ana mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi abaava mu Misiri; lwe lyaggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama: Mukama be yalayirira obutabaganya kulaba nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okutuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki. 06JOS005.007 And their children, whom he raised up in their stead, them Joshua circumcised: for they were uncircumcised, because they had not circumcised them by the way. %%% N'abaana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola: kubanga baali si bakomole, kubanga tebaabakomolera mu kkubo. 06JOS005.008 And it came to pass, when they had done circumcising all the people, that they abode in their places in the camp, till they were whole. %%% Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira ne bamala okuwona. 06JOS005.009 And the LORD said unto Joshua, This day have I rolled away the reproach of Egypt from off you. Wherefore the name of the place is called Gilgal unto this day. %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Leero njiringisizza ekivume eky'e Misiri okukibaggyako. Erinnya ery'ekifo kiri kyeryava liyitibwa Girugaali ne kaakano. 06JOS005.010 And the children of Israel encamped in Gilgal, and kept the passover on the fourteenth day of the month at even in the plains of Jericho. %%% Abaana ba Isiraeri ne basula mu Girugaali; ne balya Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo mu lusenyi olw'e Yeriko. 06JOS005.011 And they did eat of the old corn of the land on the morrow after the passover, unleavened cakes, and parched corn in the selfsame day. %%% Okuyitako ng'eweddeko ku lunaku olw'enkya ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukuswa ne kasooli omusiike, ku lunaku olwo. 06JOS005.012 And the manna ceased on the morrow after they had eaten of the old corn of the land; neither had the children of Israel manna any more; but they did eat of the fruit of the land of Canaan that year. %%% N'emmaanu n'eggwaawo enkya, bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwaako; abaana ba Isiraeri ne bataba na mmaanu nate; naye ne balya ku mmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo. 06JOS005.013 And it came to pass, when Joshua was by Jericho, that he lifted up his eyes and looked, and, behold, there stood a man over against him with his sword drawn in his hand: and Joshua went unto him, and said unto him, Art thou for us, or for our adversaries? %%% Awo, Yoswa bwe yali ng'asembedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, nga wayimiridde omuntu okumwolekera eyalina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amugamba nti Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe? 06JOS005.014 And he said, Nay; but as captain of the host of the LORD am I now come. And Joshua fell on his face to the earth, and did worship, and said unto him, What saith my lord unto his servant? %%% N'ayogera nti Nedda; naye omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano. Yoswa n'amufukaamirira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti Mukama wange agamba atya omuddu we? 06JOS005.015 And the captain of the LORD's host said unto Joshua, Loose thy shoe from off thy foot; for the place whereon thou standest is holy. And Joshua did so. %%% Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti Yambula engatto yo mu kigere kyo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu. Yoswa n'akola bw'atyo. 06JOS006.001 Now Jericho was straitly shut up because of the children of Israel: none went out, and none came in. %%% (Era Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'abaana ba Isiraeri tewaali afuluma, newakubadde ayingira.) 06JOS006.002 And the LORD said unto Joshua, See, I have given into thine hand Jericho, and the king thereof, and the mighty men of valour. %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Laba, nkukiwadde mu mukono gwo Yeriko, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi. 06JOS006.003 And ye shall compass the city, all ye men of war, and go round about the city once. Thus shalt thou do six days. %%% Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu. Bw'onookolanga bw'otyo ennaku omukaaga. 06JOS006.004 And seven priests shall bear before the ark seven trumpets of rams' horns: and the seventh day ye shall compass the city seven times, and the priests shall blow with the trumpets. %%% Ne bakabona omusanvu balisitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko: ne ku lunaku olw'omusanvu mulikyetooloola ekibuga emirundi musanvu; ne bakabona balifuuwa eŋŋombe. 06JOS006.005 And it shall come to pass, that when they make a long blast with the ram's horn, and when ye hear the sound of the trumpet, all the people shall shout with a great shout; and the wall of the city shall fall down flat, and the people shall ascend up every man straight before him. %%% Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe, abantu bonna ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene; bbugwe ow'ekibuga n'alyoka agwira ddala wansi, abantu ne balinnya buli muntu mu maaso ge. 06JOS006.006 And Joshua the son of Nun called the priests, and said unto them, Take up the ark of the covenant, and let seven priests bear seven trumpets of rams' horns before the ark of the LORD. %%% Yoswa, omwana wa Nuni, n'ayita bakabona, n'abagamba nti Musitule essanduuko ey'endagaano, era bakabona musanvu basitule eŋŋombe musanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja bazikulembeze essanduuko ya Mukama: 06JOS006.007 And he said unto the people, Pass on, and compass the city, and let him that is armed pass on before the ark of the LORD. %%% Ne bagamba abantu nti Muyite, mwetooloole ekibuga, n'abalina eby'okulwanyisa bakulembere essanduuko ya Mukama. 06JOS006.008 And it came to pass, when Joshua had spoken unto the people, that the seven priests bearing the seven trumpets of rams' horns passed on before the LORD, and blew with the trumpets: and the ark of the covenant of the LORD followed them. %%% Awo Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne bayita, ne bafuuwa eŋŋombe: essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako ennyuma. 06JOS006.009 And the armed men went before the priests that blew with the trumpets, and the rereward came after the ark, the priests going on, and blowing with the trumpets. %%% Abalina eby'okulwanyisa ne bakulembera bakabona abaafuuwa eŋŋombe, ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko, nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula. 06JOS006.010 And Joshua had commanded the people, saying, Ye shall not shout, nor make any noise with your voice, neither shall any word proceed out of your mouth, until the day I bid you shout; then shall ye shout. %%% Yoswa n'alagira abantu, ng'ayogera nti Temwogerera waggulu, n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okwogerera waggulu; ne mulyoka mwogerera waggulu. 06JOS006.011 So the ark of the LORD compassed the city, going about it once: and they came into the camp, and lodged in the camp. %%% Bw'atyo yagyetoolooza ekibuga essanduuko ya Mukama, nga bakyetooloodde omulundi gumu ne bayingira mu lusiisira, ne basula mu lusiisira. 06JOS006.012 And Joshua rose early in the morning, and the priests took up the ark of the LORD. %%% Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama. 06JOS006.013 And seven priests bearing seven trumpets of rams' horns before the ark of the LORD went on continually, and blew with the trumpets: and the armed men went before them; but the rereward came after the ark of the LORD, the priests going on, and blowing with the trumpets. %%% Ne bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko ya Mukama ne bagenda obutalinda, ne bafuuwa eŋŋombe: n'abalina eby'okulwanyisa nga babakulembedde: n'ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko ya Mukama nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula. 06JOS006.014 And the second day they compassed the city once, and returned into the camp: so they did six days. %%% Ne ku lunaku olw'okubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira: bwe baakola bwe batyo ennaku mukaaga. 06JOS006.015 And it came to pass on the seventh day, that they rose early about the dawning of the day, and compassed the city after the same manner seven times: only on that day they compassed the city seven times. %%% Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera enkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga emirundi musanvu bwe batyo: naye ku lunaku olwo beetooloola ekibuga emirundi musanvu. 06JOS006.016 And it came to pass at the seventh time, when the priests blew with the trumpets, Joshua said unto the people, Shout; for the LORD hath given you the city. %%% Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga. 06JOS006.017 And the city shall be accursed, even it, and all that are therein, to the LORD: only Rahab the harlot shall live, she and all that are with her in the house, because she hid the messengers that we sent. %%% N'ekibuga kiriterekerwa Mukama, ekibuga ne byonna ebirimu: Lakabu omwenzi y'aliwona yekka, ye ne bonna abali awamu naye mu nnyumba, kubanga yakweka abatume, be twatuma. 06JOS006.018 And ye, in any wise keep yourselves from the accursed thing, lest ye make yourselves accursed, when ye take of the accursed thing, and make the camp of Israel a curse, and trouble it. %%% Nammwe mwewalire ddala mu biterekeddwa Mukama, muleme okutwala ku biterekeddwa, nga mumaze okubitereka; bwe mutyo mwandifudde olusiisira lwa Isiraeri olukolimiddwa, era mwandirweraliikirizza; 06JOS006.019 But all the silver, and gold, and vessels of brass and iron, are consecrated unto the LORD: they shall come into the treasury of the LORD. %%% Naye effeeza yonna n’ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby’ebyuma bye bitukuvu eri Mukama; birijja mu ggwanika lya Mukama. 06JOS006.020 So the people shouted when the priests blew with the trumpets: and it came to pass, when the people heard the sound of the trumpet, and the people shouted with a great shout, that the wall fell down flat, so that the people went up into the city, every man straight before him, and they took the city. %%% Awo abantu ne baleekaana, ne bafuuwa eŋŋombe; awo, abantu bwe baawulira eddoboozi ery'eŋŋombe abantu ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, bbugwe n'agwira ddala wansi, abantu ne balinnya mu kibuga, buli muntu mu maaso ge, ne bamenya ekibuga. 06JOS006.021 And they utterly destroyed all that was in the city, both man and woman, young and old, and ox, and sheep, and ass, with the edge of the sword. %%% Ne bazikiririza ddala ebyali mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi, abato n'abakulu; n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala. 06JOS006.022 But Joshua had said unto the two men that had spied out the country, Go into the harlot's house, and bring out thence the woman, and all that she hath, as ye sware unto her. %%% Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti Mugende mu nnyumba ey'omwenzi, mumufulumye omukazi, ne by'alina byonna, nga bwe mwamulayirira. 06JOS006.023 And the young men that were spies went in, and brought out Rahab, and her father, and her mother, and her brethren, and all that she had; and they brought out all her kindred, and left them without the camp of Israel. %%% Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bamufulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina; ne baganda be, ne byonna by'alina, era n'ekika kye kyonna ne babafulumya; ne babateeka ebweru ku lusiisira lwa Isiraeri: 06JOS006.024 And they burnt the city with fire, and all that was therein: only the silver, and the gold, and the vessels of brass and of iron, they put into the treasury of the house of the LORD. %%% Ekibuga ne bakyokya omuliro, n’ebyalimu byonna: naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma byokka baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama. 06JOS006.025 And Joshua saved Rahab the harlot alive, and her father's household, and all that she had; and she dwelleth in Israel even unto this day; because she hid the messengers, which Joshua sent to spy out Jericho. %%% Naye Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe ne byonna bye yalina, Yoswa n'abawonya; n'abeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano; kubanga yakweka abatume, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko. 06JOS006.026 And Joshua adjured them at that time, saying, Cursed be the man before the LORD, that riseth up and buildeth this city Jericho: he shall lay the foundation thereof in his firstborn, and in his youngest son shall he set up the gates of it. %%% Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko: mu kufiirwa omwana we omubereberye mw'alissizaawo emisingi gyakyo, era mu kufiirwa omwana we omuto alisimba enzigi zaakyo. 06JOS006.027 So the LORD was with Joshua; and his fame was noised throughout all the country. %%% Bw'atyo Mukama yabeeranga ne Yoswa; n'ebigambo bye ne byatiikirira mu nsi yonna. 06JOS007.001 But the children of Israel committed a trespass in the accursed thing: for Achan, the son of Carmi, the son of Zabdi, the son of Zerah, of the tribe of Judah, took of the accursed thing: and the anger of the LORD was kindled against the children of Israel. %%% Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona mu biterekeddwa: kubanga Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'atwala ku biterekeddwa: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku baana ba Isiraeri. 06JOS007.002 And Joshua sent men from Jericho to Ai, which is beside Bethaven, on the east side of Bethel, and spake unto them, saying, Go up and view the country. And the men went up and viewed Ai. %%% Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda e Ayi ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba olwa Beseri, n'abagamba nti Mulinnye mukette ensi. Abantu ne balinnya ne baketta Ayi. 06JOS007.003 And they returned to Joshua, and said unto him, Let not all the people go up; but let about two or three thousand men go up and smite Ai; and make not all the people to labour thither; for they are but few. %%% Ne bakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti Abantu bonna tebagendayo; naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu balinnye bakube Ayi; toteganya abantu bonna okugendayo; kubanga abaayo batono. 06JOS007.004 So there went up thither of the people about three thousand men: and they fled before the men of Ai. %%% Awo ne balinnyayo ku bantu abasajja ng'enkumi ssatu; ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi. 06JOS007.005 And the men of Ai smote of them about thirty and six men: for they chased them from before the gate even unto Shebarim, and smote them in the going down: wherefore the hearts of the people melted, and became as water. %%% N'ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga: ne babagoba okubaggya ku wankaaki okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa: emitima gy'abantu ne gisaanuuka, ne giba ng'amazzi. 06JOS007.006 And Joshua rent his clothes, and fell to the earth upon his face before the ark of the LORD until the eventide, he and the elders of Israel, and put dust upon their heads. %%% Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olweggulo, ye n’abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe: 06JOS007.007 And Joshua said, Alas, O LORD God, wherefore hast thou at all brought this people over Jordan, to deliver us into the hand of the Amorites, to destroy us? would to God we had been content, and dwelt on the other side Jordan! %%% Yoswa n'ayogera nti Woowe, ai Mukama Katonda, okusomosa kiki ekyakusomosa abantu bano Yoludaani, okutuwaayo mu mikono egy'Abamoli, okutuzikiriza? singa twakkiriza okutuula emitala wa Yoludaani. 06JOS007.008 O LORD, what shall I say, when Israel turneth their backs before their enemies! %%% Ai Mukama, naayogera ntya, Abaisiraeri bwe bamaze okubakuba amabega abalabe baabwe? 06JOS007.009 For the Canaanites and all the inhabitants of the land shall hear of it, and shall environ us round, and cut off our name from the earth: and what wilt thou do unto thy great name? %%% Kubanga Abakanani n'abali mu nsi boana baliwulira, balituzingiza baliggya erinnya lyaffe ku nsi: naawe olirokola otya erinnya lyo ekkulu? 06JOS007.010 And the LORD said unto Joshua, Get thee up; wherefore liest thou thus upon thy face? %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Golokoka; kiki ekikugwisizza bw'otyo okwevuunika? 06JOS007.011 Israel hath sinned, and they have also transgressed my covenant which I commanded them: for they have even taken of the accursed thing, and have also stolen, and dissembled also, and they have put it even among their own stuff. %%% Abaisiraeri boonoonye; era bamenye endagaano yange gye nnabalagira; era n'okutwala batutte ku biterekeddwa; era babbye, era bakuusizza, era babiyingizizza mu bintu byabwe. 06JOS007.012 Therefore the children of Israel could not stand before their enemies, but turned their backs before their enemies, because they were accursed: neither will I be with you any more, except ye destroy the accursed from among you. %%% Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne bakuba amabega abalabe baabwe, kubanga bafuuse abakolimiddwa, sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko. 06JOS007.013 Up, sanctify the people, and say, Sanctify yourselves against to morrow: for thus saith the LORD God of Israel, There is an accursed thing in the midst of thee, O Israel: thou canst not stand before thine enemies, until ye take away the accursed thing from among you. %%% Mukale, mutukuze abantu, mwogere nti Mwetukulize olunaku olw'enkya: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Waliwo ekiterekeddwa wakati mu ggwe; Isiraeri: toyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bo; nga temunnakiggyawo ekiterekeddwa mu mmwe. 06JOS007.014 In the morning therefore ye shall be brought according to your tribes: and it shall be, that the tribe which the LORD taketh shall come according to the families thereof; and the family which the LORD shall take shall come by households; and the household which the LORD shall take shall come man by man. %%% Kale enkya munaasemberezebwa mu bika byammwe: awo, ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera mu nnyumba zaayo; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu buli muntu. 06JOS007.015 And it shall be, that he that is taken with the accursed thing shall be burnt with fire, he and all that he hath: because he hath transgressed the covenant of the LORD, and because he hath wrought folly in Israel. %%% Awo olunaatuuka anaalondebwa ng'alina ekiterekeddwa anaayokebwa omuliro, ne by'alina byonna; kubanga amenye endagaano ya Mukama, era kubanga akoze obusirusiru mu Isiraeri. 06JOS007.016 So Joshua rose up early in the morning, and brought Israel by their tribes; and the tribe of Judah was taken: %%% Awo Yoswa n'akeera enkya, n'agolokoka, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; n'ekika kya Yuda ne kirondebwa: 06JOS007.017 And he brought the family of Judah; and he took the family of the Zarhites: and he brought the family of the Zarhites man by man; and Zabdi was taken: %%% n'asembeza enda ya Yuda; n'alonda enda eya Bazera: n’asembeza enda eya Bazera buli muntu buli muntu; Zabudi n'alondebwa: 06JOS007.018 And he brought his household man by man; and Achan, the son of Carmi, the son of Zabdi, the son of Zerah, of the tribe of Judah, was taken. %%% n'asembeza ennyumba ye buli muntu buli mnntu; Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'alondebwa. 06JOS007.019 And Joshua said unto Achan, My son, give, I pray thee, glory to the LORD God of Israel, and make confession unto him; and tell me now what thou hast done; hide it not from me. %%% Yoswa n’agamba Akani nti Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri; omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa. 06JOS007.020 And Achan answered Joshua, and said, Indeed I have sinned against the LORD God of Israel, and thus and thus have I done: %%% Akani n'addamu Yoswa n'ayogera nti Mazima nnyonoonye eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, ne nkola bwe nti ne bwe nti 06JOS007.021 When I saw among the spoils a goodly Babylonish garment, and two hundred shekels of silver, and a wedge of gold of fifty shekels weight, then I coveted them, and took them; and, behold, they are hid in the earth in the midst of my tent, and the silver under it. %%% bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza ebikumi bibiri, n'olulimi olwa zaabu ekigero kyalwo esekeri amakumi ataano, ne ndyoka mbiyaayaanira, ne mbitwala; era, laba, bikwekeddwa mu ttaka wakati mu weema yange, ne ffeeza wansi waakyo: 06JOS007.022 So Joshua sent messengers, and they ran unto the tent; and, behold, it was hid in his tent, and the silver under it. %%% Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda mbiro mu weema ye; era, laba, nga kikwekeddwa mu weema ye, n'effeeza wansi waakyo. 06JOS007.023 And they took them out of the midst of the tent, and brought them unto Joshua, and unto all the children of Israel, and laid them out before the LORD. %%% Nabo ne babiggya wakati mu weema; ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama. 06JOS007.024 And Joshua, and all Israel with him, took Achan the son of Zerah, and the silver, and the garment, and the wedge of gold, and his sons, and his daughters, and his oxen, and his asses, and his sheep, and his tent, and all that he had: and they brought them unto the valley of Achor. %%% Ne Yoswa n'Abaisiraeri bonna awamu naye ne batwala Akani, omwana wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'olulimu olwa zaabu; n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze; n'endiga ze, n'eweema ye ne byonna bye yalina: ne babalinnyisa mu kiwonvu Akoli: 06JOS007.025 And Joshua said, Why hast thou troubled us? the LORD shall trouble thee this day. And all Israel stoned him with stones, and burned them with fire, after they had stoned them with stones. %%% Yoswa n'ayogera nti Kiki ekyakutweraliikirizisa? Mukama anaakweraliikiriza ggwe leero, Abaisiraeri bonna ne bamukuba amayinja; ne babookya omuliro, ne babakuba amayinja. 06JOS007.026 And they raised over him a great heap of stones unto this day. So the LORD turned from the fierceness of his anger. Wherefore the name of that place was called, The valley of Achor, unto this day. %%% Ne bamutuumako entuumu ennene ey’amayinja ne kaakano; Mukama n'akyuka okuleka obusungu bwe obukabwe. Erinnya ery'ekiwonvu kiri kyeryava liyitibwa ekiwonvu Akoli, ne leero. 06JOS008.001 And the LORD said unto Joshua, Fear not, neither be thou dismayed: take all the people of war with thee, and arise, go up to Ai: see, I have given into thy hand the king of Ai, and his people, and his city, and his land: %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Totyanga, so tokankananga: twala abantu bonna abalwanyi naawe, ogolokoke olinnye ku Ayi: laba, nkuwadde mu mukono gwo kabaka wa Ayi, n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye; 06JOS008.002 And thou shalt do to Ai and her king as thou didst unto Jericho and her king: only the spoil thereof, and the cattle thereof, shall ye take for a prey unto yourselves: lay thee an ambush for the city behind it. %%% era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu: naye omunyago gwakyo n'ente zaakyo mulibyetwalira okuba ebinyage byammwe: muteegere ekibuga ennyuma waakyo. 06JOS008.003 So Joshua arose, and all the people of war, to go up against Ai: and Joshua chose out thirty thousand mighty men of valour, and sent them away by night. %%% Awo Yoswa n'agolokoka, n'abantu bonna abalwanyi, okulinnya ku Ayi; Yoswa n'alonda abantu obukumi busatu, abazira ab'amaanyi, n'abasindika ekiro. 06JOS008.004 And he commanded them, saying, Behold, ye shall lie in wait against the city, even behind the city: go not very far from the city, but be ye all ready: %%% N'abalagira ng'ayogera nti Laba, munaateegera ekibuga ennyuma w’e kibuga: temukiba wala nnyo ekibuga naye mwenna mweteeketeeke: 06JOS008.005 And I, and all the people that are with me, will approach unto the city: and it shall come to pass, when they come out against us, as at the first, that we will flee before them, %%% nange n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga: awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka mu maaso gaabwe; 06JOS008.006 (For they will come out after us) till we have drawn them from the city; for they will say, They flee before us, as at the first: therefore we will flee before them. %%% nabo banajja okutugoberera, okutuusa lwe tunaabasendasenda okuva mu kibuga ewala; kubanga banaayogera nti Badduse mu maaso gaffe ng'olubereberye; kyetunaava tudduka mu maaso gaabwe: 06JOS008.007 Then ye shall rise up from the ambush, and seize upon the city: for the LORD your God will deliver it into your hand. %%% nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne mukwata ekibuga: kubanga Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mukono gwammwe. 06JOS008.008 And it shall be, when ye have taken the city, that ye shall set the city on fire: according to the commandment of the LORD shall ye do. See, I have commanded you. %%% Awo, bwe munaamala okukwata ekibuga, ne mukyokya omuliro okugoberera ekigambo kya Mukama bwe munaakola: laba, nze mbalagidde. 06JOS008.009 Joshua therefore sent them forth: and they went to lie in ambush, and abode between Bethel and Ai, on the west side of Ai: but Joshua lodged that night among the people. %%% Yoswa n'abasindika: ne bagenda we banaateegera, ne babeera wakati wa Neseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'e Ayi: naye Yoswa n'asula ekiro ekyo mu bantu. 06JOS008.010 And Joshua rose up early in the morning, and numbered the people, and went up, he and the elders of Israel, before the people to Ai. %%% Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka; n'akuŋŋaanya abantu, n'alinnya, ye n'abakadde ba Isiraeri, mu maaso g'abantu ne bagenda e Ayi. 06JOS008.011 And all the people, even the people of war that were with him, went up, and drew nigh, and came before the city, and pitched on the north side of Ai: now there was a valley between them and Ai. %%% Abantu bonna, abalwanyi abaali naye, ne balinnya ne basembera ne batuuka ekibuga we kiraba, ne basimba olusiisira ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Ayi: era waaliwo ekiwonvu wakati we ne Ayi. 06JOS008.012 And he took about five thousand men, and set them to lie in ambush between Bethel and Ai, on the west side of the city. %%% N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abateekateeka okuteega wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga. 06JOS008.013 And when they had set the people, even all the host that was on the north of the city, and their liers in wait on the west of the city, Joshua went that night into the midst of the valley. %%% Bwe batyo bwe baateekateeka abantu, eggye lyonna eryali ku bukiika obwa kkono obw'ekibuga, era n'abateezi baabwe abaali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu. 06JOS008.014 And it came to pass, when the king of Ai saw it, that they hasted and rose up early, and the men of the city went out against Israel to battle, he and all his people, at a time appointed, before the plain; but he wist not that there were liers in ambush against him behind the city. %%% Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yakiraba, ne banguwa ne bagolokoka, enkya, n'abantu ab'omu kibuga ne bajja ku Baisiraeri okulwana, ye n'abantu be bonna, ku kiseera ekiragiddwa, mu maaso ga Alaba; naye teyamanya nga waliwo abamuteeze ennyuma w'ekibuga. 06JOS008.015 And Joshua and all Israel made as if they were beaten before them, and fled by the way of the wilderness. %%% Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne beefuula ng'abagobeddwa mu maaso gaabwe, ne baddukira mu kkubo ery'eddungu. 06JOS008.016 And all the people that were in Ai were called together to pursue after them: and they pursued after Joshua, and were drawn away from the city. %%% N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubagoberera: ne bagoba Yoswa, ne basendebwasendebwa okuva mu kibuga ewala. 06JOS008.017 And there was not a man left in Ai or Bethel, that went not out after Israel: and they left the city open, and pursued after Israel. %%% Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, atazze kugoba Isiraeri: ne baleka ekibuga nga kigguliddwawo ne bagoba Isiraeri. 06JOS008.018 And the LORD said unto Joshua, Stretch out the spear that is in thy hand toward Ai; for I will give it into thine hand. And Joshua stretched out the spear that he had in his hand toward the city. %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga naakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga. 06JOS008.019 And the ambush arose quickly out of their place, and they ran as soon as he had stretched out his hand: and they entered into the city, and took it, and hasted and set the city on fire. %%% N'abateezi ne bagolokoka mangu mu kifo kyabwe, ne baddukana mbiro bwe yamala okugolola omukono, ne bayingira mu kibuga, ne bakimenya; ne banguwa ne bookya ekibuga omuliro. 06JOS008.020 And when the men of Ai looked behind them, they saw, and, behold, the smoke of the city ascended up to heaven, and they had no power to flee this way or that way: and the people that fled to the wilderness turned back upon the pursuers. %%% Ab'e Ayi bwe baalaba ennyuma waabwe, ne batunula, era, laba, omukka ogw'ekibuga nga gunyookera mu ggulu, ne bataba na maanyi ga kudduka okugenda eri newakubadde okudda eno: n'abantu abaali baddukidde mu ddungu ne babakyukirako abaabagoba. 06JOS008.021 And when Joshua and all Israel saw that the ambush had taken the city, and that the smoke of the city ascended, then they turned again, and slew the men of Ai. %%% Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi bamenye ekibuga, n'omukka ogw'ekibuga nga gunyooka, awo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi. 06JOS008.022 And the other issued out of the city against them; so they were in the midst of Israel, some on this side, and some on that side: and they smote them, so that they let none of them remain or escape. %%% N'abalala bannaabwe ne bava mu kibuga okubalumba; ne babeera wakati mu Baisiraeri, abalala eruuyi n'abalala eruuyi: ne babakuba, obutaganya muntu kusigalawo newakubadde okudduka. 06JOS008.023 And the king of Ai they took alive, and brought him to Joshua. %%% Ne kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa. 06JOS008.024 And it came to pass, when Israel had made an end of slaying all the inhabitants of Ai in the field, in the wilderness wherein they chased them, and when they were all fallen on the edge of the sword, until they were consumed, that all the Israelites returned unto Ai, and smote it with the edge of the sword. %%% Awo Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala abaali mu Ayi bonna mu lusenyi, mu ddungu lye baabagoberamu, bonna ne bagwa n'obwogi bw'ekitala ne baggwaawo, Abaisiraeri bonna ne balyoka bakomawo e Ayi, ne bakikuba n'obwogi bw'ekitala. 06JOS008.025 And so it was, that all that fell that day, both of men and women, were twelve thousand, even all the men of Ai. %%% Awo bonna abattibwa ku lunaku olwo, abasajja n'abakazi, baali kakumi mu enkumi bbiri, be bantu bonna abaali mu Ayi. 06JOS008.026 For Joshua drew not his hand back, wherewith he stretched out the spear, until he had utterly destroyed all the inhabitants of Ai. %%% Kubanga Yoswa teyazza mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda, okutuusa lwe yamala okubazikiririza ddala abaali mu Ayi bonna. 06JOS008.027 Only the cattle and the spoil of that city Israel took for a prey unto themselves, according unto the word of the LORD which he commanded Joshua. %%% Wabula ente n'omunyago ogw'ekibuga ekyo Abaisiraeri ne babyetwalira, okuba ebinyage byabwe, ng'ekigambo kya Mukama kye yalagira Yoswa. 06JOS008.028 And Joshua burnt Ai, and made it an heap for ever, even a desolation unto this day. %%% Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akifuula ekifunvu emirembe gyonna, era ekyazika, ne kaakano. 06JOS008.029 And the king of Ai he hanged on a tree until eventide: and as soon as the sun was down, Joshua commanded that they should take his carcase down from the tree, and cast it at the entering of the gate of the city, and raise thereon a great heap of stones, that remaineth unto this day. %%% Ne kabaka we Ayi n'amuwanika ku muti okutuusa olweggulo: enjuba bwe yagwa Yoswa n'alagira, ne baggya omulambo gwe ku muti, ne bagusuula ku muzigo: ku wankaaki ow'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ne kaakano. 06JOS008.030 Then Joshua built an altar unto the LORD God of Israel in mount Ebal, %%% Awo Yoswa n'alyoka azimbira Mukama ekyoto, Katonda wa Isiraeri, ku lusozi Ebali, 06JOS008.031 As Moses the servant of the LORD commanded the children of Israel, as it is written in the book of the law of Moses, an altar of whole stones, over which no man hath lift up any iron: and they offered thereon burnt offerings unto the LORD, and sacrificed peace offerings. %%% nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira abaana ba Isiraeri; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, ekyoto eky'amayinja amalamba, omuntu g'atassaako kyuma kyonna: ne bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ne bamuleetera ebiweebwayo olw'emirembe. 06JOS008.032 And he wrote there upon the stones a copy of the law of Moses, which he wrote in the presence of the children of Israel. %%% N'awandiika awo ku mayinja amateeka ga Musa, ge yawandiika, mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 06JOS008.033 And all Israel, and their elders, and officers, and their judges, stood on this side the ark and on that side before the priests the Levites, which bare the ark of the covenant of the LORD, as well the stranger, as he that was born among them; half of them over against mount Gerizim, and half of them over against mount Ebal; as Moses the servant of the LORD had commanded before, that they should bless the people of Israel. %%% N'Abaisiraeri bonna, n'abakadde baabwe, n'abaami, n’abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi ez'essanduuko mu maaso ga bakabona Abaleevi, abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, si nzaalwa bokka, naye ne bannaggwanga ekitundu kyabwe kumi olusozi Gerizimu gye lusimba, n’ekitundu kyabwe ekirala olusozi Ebali gye lusimba; nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira, basookenga okusabira omukisa abantu ba Isiraeri. 06JOS008.034 And afterward he read all the words of the law, the blessings and cursings, according to all that is written in the book of the law. %%% Oluvannyuma n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimira, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka. 06JOS008.035 There was not a word of all that Moses commanded, which Joshua read not before all the congregation of Israel, with the women, and the little ones, and the strangers that were conversant among them. %%% Tewali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasoma mu maaso ag'ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri, n'abakazi, n’abaana abato, ne bannaggwanga abaatambulanga mu bo. 06JOS009.001 And it came to pass, when all the kings which were on this side Jordan, in the hills, and in the valleys, and in all the coasts of the great sea over against Lebanon, the Hittite, and the Amorite, the Canaanite, the Perizzite, the Hivite, and the Jebusite, heard thereof; %%% Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsenyi, ne ku ttale lyonna ery'ennyanja ennene Lebanooni gye lusimba, Abakiiti, n'Abamoli, n'Abakanani, n'Abaperizi n'Abakiivi, Abayebusi, bwe baakiwulira; 06JOS009.002 That they gathered themselves together, to fight with Joshua and with Israel, with one accord. %%% ne balyoka bakuŋŋaanira wamu, okulwanyisa Yoswa n'Abaisiraeri, n'omwoyo gumu. 06JOS009.003 And when the inhabitants of Gibeon heard what Joshua had done unto Jericho and to Ai, %%% Naye abaali mu Gibyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku yeriko ne Ayi, 06JOS009.004 They did work wilily, and went and made as if they had been ambassadors, and took old sacks upon their asses, and wine bottles, old, and rent, and bound up; %%% ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa; 06JOS009.005 And old shoes and clouted upon their feet, and old garments upon them; and all the bread of their provision was dry and mouldy. %%% n'engatto enkadde ezibotose mu bigere byabwe, era nga bambadde ebyambalo ebikadde; n’emmere yonna ey'entanda yaabwe ng'ekaliridde ng'ekutte obukuku. 06JOS009.006 And they went to Joshua unto the camp at Gilgal, and said unto him, and to the men of Israel, We be come from a far country: now therefore make ye a league with us. %%% Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira Girugaali, ne bamugamba ye n'abantu ba Isiraeri nti Tuvudde mu nsi wala: kale kaakano mulagaane naffe: 06JOS009.007 And the men of Israel said unto the Hivites, Peradventure ye dwell among us; and how shall we make a league with you? %%% N'abantu ba Isiraeri ne bagamba Abakiivi nti Wozzi ewammwe muli wakati wansi yaffe; naffe tunaalagaana tutya nammwe? 06JOS009.008 And they said unto Joshua, We are thy servants. And Joshua said unto them, Who are ye? and from whence come ye? %%% Ne bagamba Yoswa nti Tuli baddu bo. Yoswa n'abagamba nti Muli baani? era muva wa? 06JOS009.009 And they said unto him, From a very far country thy servants are come because of the name of the LORD thy God: for we have heard the fame of him, and all that he did in Egypt, %%% Ne bamugamba nti Abaddu bo bavudde mu nsi wala nnyo okujja wano olw'erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga twawulira okwatiikirira kwe, ne byonna bye yakola mu Misiri, 06JOS009.010 And all that he did to the two kings of the Amorites, that were beyond Jordan, to Sihon king of Heshbon, and to Og king of Bashan, which was at Ashtaroth. %%% ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka w'e Kesuboni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyali mu Asutaloosi. 06JOS009.011 Wherefore our elders and all the inhabitants of our country spake to us, saying, Take victuals with you for the journey, and go to meet them, and say unto them, We are your servants: therefore now make ye a league with us. %%% N'abakadde baffe ne bonna abaali mu nsi yaffe ne batugamba nti Mutwalire olugendo olwo entanda mu mikono gyammwe mugende mubasisinkane, mubagambe nti Tuli baddu bammwe: kale kaakano mulagaane naffe. 06JOS009.012 This our bread we took hot for our provision out of our houses on the day we came forth to go unto you; but now, behold, it is dry, and it is mouldy: %%% Emmere yaffe eno twagisibirira entanda yaffe mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku: 06JOS009.013 And these bottles of wine, which we filled, were new; and, behold, they be rent: and these our garments and our shoes are become old by reason of the very long journey. %%% n'amaliba gano ag’omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise: n'ebyambalo byaffe bino engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo, 06JOS009.014 And the men took of their victuals, and asked not counsel at the mouth of the LORD. %%% Abantu ne batwala ku ntanda zaabwe, ne batabuuza bigambo eri akamwa ka Mukama. 06JOS009.015 And Joshua made peace with them, and made a league with them, to let them live: and the princes of the congregation sware unto them. %%% Yoswa n'alagaana nabo emirembe, n'alagaana nabo obutabatta: n’abakulu b'ekibiina ne babalayirira. 06JOS009.016 And it came to pass at the end of three days after they had made a league with them, that they heard that they were their neighbours, and that they dwelt among them. %%% Awo mu nnaku essatu, nga bamaze okulagaana nabo, ne bawulira nga baliraanwa baabwe, era nga baali wakati waabwe. 06JOS009.017 And the children of Israel journeyed, and came unto their cities on the third day. Now their cities were Gibeon, and Chephirah, and Beeroth, and Kirjathjearim. %%% Abaana ba Isiraeri ne batambula ne batuuka mu bibuga byabwe ku lunaku olw'okusatu: Ebibuga byabwe byali Gibyoni, ne Kefira, ne Beerosi, ne Kiriyasuyalimu. 06JOS009.018 And the children of Israel smote them not, because the princes of the congregation had sworn unto them by the LORD God of Israel. And all the congregation murmured against the princes. %%% N'abaana ba Isiraeri ne batabakuba, kubanga abakulu b'ekibiina baabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: N'ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulu. 06JOS009.019 But all the princes said unto all the congregation, We have sworn unto them by the LORD God of Israel: now therefore we may not touch them. %%% Naye abakulu bonna ne bagamba ekibiina kyonna nti Twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: kale kaakano tetuuyinze kubakwatako. 06JOS009.020 This we will do to them; we will even let them live, lest wrath be upon us, because of the oath which we sware unto them. %%% Bwe tunaabakola bwe tutyo, okubaleka nga balamu; obusungu buleme okutubaako, olw'ekirayiro kye twabalayirira. 06JOS009.021 And the princes said unto them, Let them live; but let them be hewers of wood and drawers of water unto all the congregation; as the princes had promised them. %%% Abakulu ne bagamba nti Mubaleke nga balamu: ne babeera abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina kyonna; ng'abakulu bwe baabagamba. 06JOS009.022 And Joshua called for them, and he spake unto them, saying, Wherefore have ye beguiled us, saying, We are very far from you; when ye dwell among us? %%% Yoswa n'abayita n'abagamba nti Kiki ekyabatulimbya, nga mwogera nti Tuli wala nammwe, nga muli muffe? 06JOS009.023 Now therefore ye are cursed, and there shall none of you be freed from being bondmen, and hewers of wood and drawers of water for the house of my God. %%% Kale kaakano mukolimiddwa, so tewalibula kubeera mu mmwe abaddu ennaku zonna, abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ennyumba ya Katonda wange. 06JOS009.024 And they answered Joshua, and said, Because it was certainly told thy servants, how that the LORD thy God commanded his servant Moses to give you all the land, and to destroy all the inhabitants of the land from before you, therefore we were sore afraid of our lives because of you, and have done this thing. %%% Ne bamuddamu Yoswa ne boogera nti Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi yonna, n'okuzikiriza bonna abali mu nsi mu maaso gammwe; kyetwava tutya ennyo olw'obulamu bwaffe ku lwammwe, ne tukola bwe tutyo. 06JOS009.025 And now, behold, we are in thine hand: as it seemeth good and right unto thee to do unto us, do. %%% Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo: bw'olowooza nga kirungi era kituukirivu okutukola, kola bw'otyo. 06JOS009.026 And so did he unto them, and delivered them out of the hand of the children of Israel, that they slew them not. %%% Era bw'atyo bwe yabakola, n'abawonya mu mukono gw'abaana ba Isiraeri okubatta. 06JOS009.027 And Joshua made them that day hewers of wood and drawers of water for the congregation, and for the altar of the LORD, even unto this day, in the place which he should choose. %%% Ku lunaku luli Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne kaakano, mu kifo ky'anaalagiranga. 06JOS010.001 Now it came to pass, when Adonizedec king of Jerusalem had heard how Joshua had taken Ai, and had utterly destroyed it; as he had done to Jericho and her king, so he had done to Ai and her king; and how the inhabitants of Gibeon had made peace with Israel, and were among them; %%% Awo, Adonizedeki kabaka w’e Yerusaalemi bwe yawulira Yoswa bwe yamenya Ayi n'akizikiririza ddala; nti, bwe yakola Yeriko ne kabaka waamu, bw'atyo bwe yakola Ayi ne kabaka waamu; era ng'ab'omu Gibyoni baalagaana emirembe n'Abaisiraeri, era nga bali mu bo; 06JOS010.002 That they feared greatly, because Gibeon was a great city, as one of the royal cities, and because it was greater than Ai, and all the men thereof were mighty. %%% ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era kubanga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna bazira: 06JOS010.003 Wherefore Adonizedec king of Jerusalem sent unto Hoham king of Hebron, and unto Piram king of Jarmuth, and unto Japhia king of Lachish, and unto Debir king of Eglon, saying, %%% Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atuma eri Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, n'eri Piramu, kabaka w'e Yalamusi; n’eri, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, n'eri Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti 06JOS010.004 Come up unto me, and help me, that we may smite Gibeon: for it hath made peace with Joshua and with the children of Israel. %%% Mulinnye gye ndi mumbeere, tukube Gibyoni: kubanga baalagaana emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri. 06JOS010.005 Therefore the five kings of the Amorites, the king of Jerusalem, the king of Hebron, the king of Jarmuth, the king of Lachish, the king of Eglon, gathered themselves together, and went up, they and all their hosts, and encamped before Gibeon, and made war against it. %%% Awo bakabaka abataano ab'Abamoli, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w'e Kebbulooni, kabaka w'e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka w’e Eguloni, ne bakuŋŋaanira wamu, ne balinnya, bo n'eggye lyabwe lyonna, ne basimba olusiisira ku Gibyoni, ne bakirwanyisa. 06JOS010.006 And the men of Gibeon sent unto Joshua to the camp to Gilgal, saying, Slack not thy hand from thy servants; come up to us quickly, and save us, and help us: for all the kings of the Amorites that dwell in the mountains are gathered together against us. %%% N'ab'e Gibyoni ne batumira Yoswa ku lusiisira ku Girugaali nga boogera nti Toddiriza mukono gwo ku baddu bo; olinnye gye tuli mangu, otuwonye, otubeere: kubanga bakabaka bonna ab'Abamoli abatuula mu nsi ey'ensozi bakuŋŋaanidde ku ffe. 06JOS010.007 So Joshua ascended from Gilgal, he, and all the people of war with him, and all the mighty men of valour. %%% Awo Yoswa n'ava mu Girugaali n'alinnya, ye n'abalwanyi bonna awamu naye, n'abazira bonna ab'amaanyi. 06JOS010.008 And the LORD said unto Joshua, Fear them not: for I have delivered them into thine hand; there shall not a man of them stand before thee. %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Tobatya, kubanga mbakuwadde mu mikono gyo: tewaabe muntu mu bo anaayimirira mumaaso go. 06JOS010.009 Joshua therefore came unto them suddenly, and went up from Gilgal all night. %%% Awo Yoswa n'abajjirira mangu nga tebamanyi; kubanga yava Girugaali n'alinnya ekiro n'akeesa obudde. 06JOS010.010 And the LORD discomfited them before Israel, and slew them with a great slaughter at Gibeon, and chased them along the way that goeth up to Bethhoron, and smote them to Azekah, and unto Makkedah. %%% Mukama n'abaswaza mu maaso ga Isiraeri, n'abattira ddala bangi mu Gibyoni, n'abagoba mu kkubo eririnnya e Besukolooni, n'abakuba okubatuusa ku Azeka ne ku Makkeda. 06JOS010.011 And it came to pass, as they fled from before Israel, and were in the going down to Bethhoron, that the LORD cast down great stones from heaven upon them unto Azekah, and they died: they were more which died with hailstones than they whom the children of Israel slew with the sword. %%% Awo, bwe badduka mu maaso ga Isiraeri, ne baserengeta e Besukolooni, Mukama n'asuula amayinja amanene nga gava mu ggulu n'abakuba mu Azeka; ne bafa: abaafa amayinja ag'omuzira ne basinga bali abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala. 06JOS010.012 Then spake Joshua to the LORD in the day when the LORD delivered up the Amorites before the children of Israel, and he said in the sight of Israel, Sun, stand thou still upon Gibeon; and thou, Moon, in the valley of Ajalon. %%% Awo Yoswa n'agamba Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti Enjuba, yimirira ggwe ku Gibyoni; Naawe, omwezi, mu kiwonvu Ayalooni. 06JOS010.013 And the sun stood still, and the moon stayed, until the people had avenged themselves upon their enemies. Is not this written in the book of Jasher? So the sun stood still in the midst of heaven, and hasted not to go down about a whole day. %%% Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwalana eggwanga ku balabe baabwe. Ekyo tekyawandiikibwa mu kitabo kya Yasali? Enjuba n'erinda wakati mu ggulu, n'eteyanguwa kugwa ng'olunaku olulamba. 06JOS010.014 And there was no day like that before it or after it, that the LORD hearkened unto the voice of a man: for the LORD fought for Israel. %%% So tewali lunaku olwenkana olwo oba olwalusooka oba oluvannyuma lwalwo Mukama okuwulira eddoboozi ly'omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri. 06JOS010.015 And Joshua returned, and all Israel with him, unto the camp to Gilgal. %%% Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali. 06JOS010.016 But these five kings fled, and hid themselves in a cave at Makkedah. %%% Ne bakabaka abo abataano ne badduka, ne beekweka mu mpuku mu Makkeda. 06JOS010.017 And it was told Joshua, saying, The five kings are found hid in a cave at Makkedah. %%% Ne babuulira Yoswa nti Bakabaka abataano tubalabye, nga beekwese mu mpuku mu Makkeda. 06JOS010.018 And Joshua said, Roll great stones upon the mouth of the cave, and set men by it for to keep them: %%% Yoswa n'ayogera nti Muyiringisirize amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, mugiteekeko abantu babakuume; 06JOS010.019 And stay ye not, but pursue after your enemies, and smite the hindmost of them; suffer them not to enter into their cities: for the LORD your God hath delivered them into your hand. %%% naye mmwe temulinda; mugoberere abalabe bammwe, mubakube ab'ennyuma mu bo; temubaganya knyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mu mukono gwammwe. 06JOS010.020 And it came to pass, when Joshua and the children of Israel had made an end of slaying them with a very great slaughter, till they were consumed, that the rest which remained of them entered into fenced cities. %%% Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri bwe baamalira ddala okutta abantu abangi ennyo, ne baggweerawo ddala, n'abaasigalawo mu bo ne bayingira mu bibuga ebiriko ebigo, 06JOS010.021 And all the people returned to the camp to Joshua at Makkedah in peace: none moved his tongue against any of the children of Israel. %%% abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda n'emirembe: tewaali muntu eyagezaako okwogera okuvuma n'omu ku baana ba Isiraeri. 06JOS010.022 Then said Joshua, Open the mouth of the cave, and bring out those five kings unto me out of the cave. %%% Yoswa n'alyoka ayogera nti Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano mu mpuku. 06JOS010.023 And they did so, and brought forth those five kings unto him out of the cave, the king of Jerusalem, the king of Hebron, the king of Jarmuth, the king of Lachish, and the king of Eglon. %%% Ne bakola bwe batyo, ne baggyamu bakabaka bali abataano mu mpuku ne babamuleetera, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w’e Kebbulooni, kabaka w’e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka w'e Eguloni. 06JOS010.024 And it came to pass, when they brought out those kings unto Joshua, that Joshua called for all the men of Israel, and said unto the captains of the men of war which went with him, Come near, put your feet upon the necks of these kings. And they came near, and put their feet upon the necks of them. %%% Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abaami ab'abalwanyi abaagenda naye nti Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano. Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe. 06JOS010.025 And Joshua said unto them, Fear not, nor be dismayed, be strong and of good courage: for thus shall the LORD do to all your enemies against whom ye fight. %%% Yoswa n'abagamba nti Temutya, so temukankana, muddeemu amaanyi, mugume emyoyo: kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo. 06JOS010.026 And afterward Joshua smote them, and slew them, and hanged them on five trees: and they were hanging upon the trees until the evening. %%% Oluvannyuma Yoswa n'abafumita, n'abatta, n'abawanika ku miti etaano: ne bawanikibwa ku miti okutuusa olweggulo. 06JOS010.027 And it came to pass at the time of the going down of the sun, that Joshua commanded, and they took them down off the trees, and cast them into the cave wherein they had been hid, and laid great stones in the cave's mouth, which remain until this very day. %%% Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne babaggya ku miti, ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, ne kaakano. 06JOS010.028 And that day Joshua took Makkedah, and smote it with the edge of the sword, and the king thereof he utterly destroyed, them, and all the souls that were therein; he let none remain: and he did to the king of Makkedah as he did unto the king of Jericho. %%% Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu; n'abazikiririza ddala bo n'emyoyo gyonna egyalimu, n'atasigazaako n'omu: n'akola kabaka w’e Makkeda nga bwe yakola kabaka w’e Yeriko. 06JOS010.029 Then Joshua passed from Makkedah, and all Israel with him, unto Libnah, and fought against Libnah: %%% Yoswa n'ava mu Makkeda; n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Libuna, ne balwana n'ab'e Libuna. 06JOS010.030 And the LORD delivered it also, and the king thereof, into the hand of Israel; and he smote it with the edge of the sword, and all the souls that were therein; he let none remain in it; but did unto the king thereof as he did unto the king of Jericho. %%% Mukama nakyo n'akiwaayo, ne kabaka waamu, mu mukono gwa Isiraeri; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'atasigazaamu n'omu; n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko. 06JOS010.031 And Joshua passed from Libnah, and all Israel with him, unto Lachish, and encamped against it, and fought against it: %%% Yoswa n'ava mu Libuna n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Lakisi, n'akisimbako olusiisira, n'akirwanyisa. 06JOS010.032 And the LORD delivered Lachish into the hand of Israel, which took it on the second day, and smote it with the edge of the sword, and all the souls that were therein, according to all that he had done to Libnah. %%% Mukama n'akiwaayo Lakisi mu mukono gwa Isiraeri; n'akimenya ku lunaku olwokubiri, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu, nga byonna bye yakola Libuna. 06JOS010.033 Then Horam king of Gezer came up to help Lachish; and Joshua smote him and his people, until he had left him none remaining. %%% Kolamu kabaka w'e Gezeri n'alyoka alinnya okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba ye n'abantu be, n'atasigazaako n'omu. 06JOS010.034 And from Lachish Joshua passed unto Eglon, and all Israel with him; and they encamped against it, and fought against it: %%% Yoswa n'ava mu Lakisi, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Eguloni; ne bakisimbako olusiisira, ne bakirwanyisa; 06JOS010.035 And they took it on that day, and smote it with the edge of the sword, and all the souls that were therein he utterly destroyed that day, according to all that he had done to Lachish. %%% ne bakimenya ku lunaku olwo, ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'agizikiririza ddala ku lunaku olwo; nga byonna bye yakola Lakisi. 06JOS010.036 And Joshua went up from Eglon, and all Israel with him, unto Hebron; and they fought against it: %%% Yoswa n'ava mu Eguloni, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Kebbulooni; ne bakirwanyisa: 06JOS010.037 And they took it, and smote it with the edge of the sword, and the king thereof, and all the cities thereof, and all the souls that were therein; he left none remaining, according to all that he had done to Eglon; but destroyed it utterly, and all the souls that were therein. %%% ne bakimenya ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna, n'emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu, nga byonna bye yakola Eguloni; naye n'akizikiririza ddala, n'emyoyo gyonna egyalimu. 06JOS010.038 And Joshua returned, and all Israel with him, to Debir; and fought against it: %%% Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Debiri; n'akirwanyisa: 06JOS010.039 And he took it, and the king thereof, and all the cities thereof; and they smote them with the edge of the sword, and utterly destroyed all the souls that were therein; he left none remaining: as he had done to Hebron, so he did to Debir, and to the king thereof; as he had done also to Libnah, and to her king. %%% n'akimenya ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna; ne babitta n'obwogi bw'ekitala, ne bazikiririza ddala emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu: nga bwe yakola Kebbulooni, bwe yakola bw'atyo Debiri, ne kabaka waamu; era nga bwe yakola Libuna, ne kabaka waamu. 06JOS010.040 So Joshua smote all the country of the hills, and of the south, and of the vale, and of the springs, and all their kings: he left none remaining, but utterly destroyed all that breathed, as the LORD God of Israel commanded. %%% Bw'atyo Yoswa bwe yakuba ensi yonna, ensi ey'ensozi; n'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ensenyi, n'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna; n'atasigazaako n'omu: naye n'azikiririza ddala bonna abassa omukka, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira. 06JOS010.041 And Joshua smote them from Kadeshbarnea even unto Gaza, and all the country of Goshen, even unto Gibeon. %%% Yoswa n'abakuba okuva ku Kadesubanea okutuuka ku Gaza; n'ensi yonna eya Goseni, okutuuka ku Gibyoni. 06JOS010.042 And all these kings and their land did Joshua take at one time, because the LORD God of Israel fought for Israel. %%% Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abamenya mulundi gumu; kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri. 06JOS010.043 And Joshua returned, and all Israel with him, unto the camp to Gilgal. %%% Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali. 06JOS011.001 And it came to pass, when Jabin king of Hazor had heard those things, that he sent to Jobab king of Madon, and to the king of Shimron, and to the king of Achshaph, %%% Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yakiwulira; n'atumira Yobabu kabaka w’e Madoni, ne kabaka w’e Simuloni, ne kabaka w’e Akusafu 06JOS011.002 And to the kings that were on the north of the mountains, and of the plains south of Chinneroth, and in the valley, and in the borders of Dor on the west, %%% ne bakabaka abaali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, mu nsi ey'ensozi, ne mu Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez'e Doli ku luuyi olw'ebugwanjuba, 06JOS011.003 And to the Canaanite on the east and on the west, and to the Amorite, and the Hittite, and the Perizzite, and the Jebusite in the mountains, and to the Hivite under Hermon in the land of Mizpeh. %%% eri Omukanani ku buvanjuba ne ku bugwanjuba; n'eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi; n'eri Omuyebusi mu nsi ey'ensozi; n’eri Omukiivi Kerumooni gye lusimba mu nsi ey'e Mizupa. 06JOS011.004 And they went out, they and all their hosts with them, much people, even as the sand that is upon the sea shore in multitude, with horses and chariots very many. %%% Ne bajja, bo n'eggye lyabwe lyonna awamu nabo; abantu bangi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja bwe guli omungi, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo. 06JOS011.005 And when all these kings were met together, they came and pitched together at the waters of Merom, to fight against Israel. %%% Awo, bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basimba olusiisira awamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri. 06JOS011.006 And the LORD said unto Joshua, Be not afraid because of them: for to morrow about this time will I deliver them up all slain before Israel: thou shalt hough their horses, and burn their chariots with fire. %%% Mukama n'agamba Yoswa nti Totya olw'abo: kubanga jjo nga kaakano ndibawaayo bonna nga battiddwa mu maaso ga Isiraeri: embalaasi zaabwe olizitema enteega, n'amagaali gaabwe oligookya omuliro. 06JOS011.007 So Joshua came, and all the people of war with him, against them by the waters of Merom suddenly; and they fell upon them. %%% Awo Yoswa n'ajja, n'abalwanyi bonna awamu naye, ne babalumba ku mazzi ag'e Meromu nga tebamanyi, ne babagwako. 06JOS011.008 And the LORD delivered them into the hand of Israel, who smote them, and chased them unto great Zidon, and unto Misrephothmaim, and unto the valley of Mizpeh eastward; and they smote them, until they left them none remaining. %%% Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babagoba okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu Mizupe ku buvanjuba; ne babakuba obutasigazaako n'omu. 06JOS011.009 And Joshua did unto them as the LORD bade him: he houghed their horses, and burnt their chariots with fire. %%% Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagidde: n'azitema enteega embalaasi zaabwe, n'ayokya omuliro amagaali gaabwe. 06JOS011.010 And Joshua at that time turned back, and took Hazor, and smote the king thereof with the sword: for Hazor beforetime was the head of all those kingdoms. %%% Yoswa n'adda ennyuma mu biro ebyo, n'amenya Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala; kubanga Kazoli edda liri kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna. 06JOS011.011 And they smote all the souls that were therein with the edge of the sword, utterly destroying them: there was not any left to breathe: and he burnt Hazor with fire. %%% N'emyoyo gyonna egyalimu ne bagitta n'obwogi bw'ekitala, ne bagizikiririza ddala: tewaasigalawo assa mukka: ne Kazoli n'akyokya omuliro. 06JOS011.012 And all the cities of those kings, and all the kings of them, did Joshua take, and smote them with the edge of the sword, and he utterly destroyed them, as Moses the servant of the LORD commanded. %%% N'ebibuga byonna ebya bakabaka bali, ne bakabaka baamu bonna, Yoswa n'abamenya n'abatta n'obwogi bw'ekitala, n'abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira. 06JOS011.013 But as for the cities that stood still in their strength, Israel burned none of them, save Hazor only; that did Joshua burn. %%% Naye ebibuga ebyayimirira ku bifunvu byabyo, Abaisiraeri ne batayokyako n'ekimu, wabula Kazoli kyokka; ekyo Yoswa n'akyokya. 06JOS011.014 And all the spoil of these cities, and the cattle, the children of Israel took for a prey unto themselves; but every man they smote with the edge of the sword, until they had destroyed them, neither left they any to breathe. %%% N'omunyago gwonna ogw'ebibuga ebyo n'ente, abaana ba Isiraeri ne babyetwalira okuba ebinyage byabwe; naye buli muntu ne bamutta n'obwogi bw'ekitala, ne babazikiriza; ne batasigazaako muntu assa mukka. 06JOS011.015 As the LORD commanded Moses his servant, so did Moses command Joshua, and so did Joshua; he left nothing undone of all that the LORD commanded Moses. %%% Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, Musa bwe yalagira bw'atyo Yoswa: ne Yoswa bwe yakola bw'atyo; teyaleka kintu obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa. 06JOS011.016 So Joshua took all that land, the hills, and all the south country, and all the land of Goshen, and the valley, and the plain, and the mountain of Israel, and the valley of the same; %%% Bw'atyo Yoswa bwe yatwala ensi eyo yonna ensi ey'ensozi, n'ey'obukiika obwa ddyo yonna, n'ensi yonna eya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ensi ey'ensenyi yaayo; 06JOS011.017 Even from the mount Halak, that goeth up to Seir, even unto Baalgad in the valley of Lebanon under mount Hermon: and all their kings he took, and smote them, and slew them. %%% okuva ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri, okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni: ne bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita, n’abatta. 06JOS011.018 Joshua made war a long time with all those kings. %%% Yoswa n'alwawo ng'alwana ne bakabaka abo bonna. 06JOS011.019 There was not a city that made peace with the children of Israel, save the Hivites the inhabitants of Gibeon: all other they took in battle. %%% Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, wabula Abakiivi abaali mu Gibyoni: baabimenya byonna mu kulwana. 06JOS011.020 For it was of the LORD to harden their hearts, that they should come against Israel in battle, that he might destroy them utterly, and that they might have no favour, but that he might destroy them, as the LORD commanded Moses. %%% Kubanga kyava eri Mukama okukakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, baleme okulaba ekisa, naye abazikirize, nga Mukama bwe yalagira Musa. 06JOS011.021 And at that time came Joshua, and cut off the Anakims from the mountains, from Hebron, from Debir, from Anab, and from all the mountains of Judah, and from all the mountains of Israel: Joshua destroyed them utterly with their cities. %%% Yoswa n'ajja mu biro ebyo, n'amalamu Abanaki mu nsi ey'ensozi, mu Kebbulooni, mu Debiri, mu Anabi, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Isiraeri: Yoswa n'abazikiririza ddala, wamu n'ebibuga byabwe. 06JOS011.022 There was none of the Anakims left in the land of the children of Israel: only in Gaza, in Gath, and in Ashdod, there remained. %%% Tewaali Banaki abaasigalawo mu nsi ey'abaana ba Isiraeri: wabula mu Gaza, mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigala abamu. 06JOS011.023 So Joshua took the whole land, according to all that the LORD said unto Moses; and Joshua gave it for an inheritance unto Israel according to their divisions by their tribes. And the land rested from war. %%% Yoswa bw'atyo bwe yalya ensi yonna; nga byonna Mukama bye yagamba Musa: Yoswa n'agiwa Isiraeri okuba obusika nga bwe baayawulibwa mu bika byabwe. N'ensi n'ewummula okulwana. 06JOS012.001 Now these are the kings of the land, which the children of Israel smote, and possessed their land on the other side Jordan toward the rising of the sun, from the river Arnon unto mount Hermon, and all the plain on the east: %%% Bano be bakabaka ab'ensi abaana ba Isiraeri be baakuba, ne balya ensi yaabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni; ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba. 06JOS012.002 Sihon king of the Amorites, who dwelt in Heshbon, and ruled from Aroer, which is upon the bank of the river Arnon, and from the middle of the river, and from half Gilead, even unto the river Jabbok, which is the border of the children of Ammon; %%% Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeera mu Kesuboni, era eyafuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yabboki, ye nsalo ey'abaana ba Amoni 06JOS012.003 And from the plain to the sea of Chinneroth on the east, and unto the sea of the plain, even the salt sea on the east, the way to Bethjeshimoth; and from the south, under Ashdothpisgah: %%% ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kkubo ery'e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, wansi wa Pisuga: 06JOS012.004 And the coast of Og king of Bashan, which was of the remnant of the giants, that dwelt at Ashtaroth and at Edrei, %%% n'ensalo ya Ogi kabaka w'e Basani, ow'omu Balefa abaasigalawo, eyabeera mu Asutaloosi ne mu Ederei, 06JOS012.005 And reigned in mount Hermon, and in Salcah, and in all Bashan, unto the border of the Geshurites and the Maachathites, and half Gilead, the border of Sihon king of Heshbon. %%% era eyafugira ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuuka ku nsalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi; ensalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni. 06JOS012.006 Them did Moses the servant of the LORD and the children of Israel smite: and Moses the servant of the LORD gave it for a possession unto the Reubenites, and the Gadites, and the half tribe of Manasseh. %%% Musa omuweereza wa Mukama n'abaana ba Isiraeri baabakuba; ne Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa okugirya eri Abalewubeeni, n'Abagaasi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase. 06JOS012.007 And these are the kings of the country which Joshua and the children of Israel smote on this side Jordan on the west, from Baalgad in the valley of Lebanon even unto the mount Halak, that goeth up to Seir; which Joshua gave unto the tribes of Israel for a possession according to their divisions; %%% Era ne bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be baakuba emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri; Yoswa n'agiwa ebika bya Isiraeri okugirya nga bwe baayawulibwa; 06JOS012.008 In the mountains, and in the valleys, and in the plains, and in the springs, and in the wilderness, and in the south country; the Hittites, the Amorites, and the Canaanites, the Perizzites, the Hivites, and the Jebusites: %%% mu nsi ey'ensozi, ne mu nsi ey'ensenyi, ne mu Alaba, ne ku nsozi awakkirwa, ne mu ddungu, ne mu nsi ey'obukiika obwa ddyo; Omukiiti, Omwamoli, n'Omukanani, Omuperizi, Omukiivi; n'Omuyebusi; 06JOS012.009 The king of Jericho, one; the king of Ai, which is beside Bethel, one; %%% kabaka w'e Yeriko, omu; kabaka w’e Ayi, ekiriraanye Beseri, omu; 06JOS012.010 The king of Jerusalem, one; the king of Hebron, one; %%% kabaka w’e Yerusaalemi, omu; kabaka w’e Kebbulooni, omu; 06JOS012.011 The king of Jarmuth, one; the king of Lachish, one; %%% kabaka w'e Yalamusi, omu; kabaka w'e Lakisi, omu; 06JOS012.012 The king of Eglon, one; the king of Gezer, one; %%% kabaka w'e Eguloni, omu; kabaka w'e Gezeri, omu; 06JOS012.013 The king of Debir, one; the king of Geder, one; %%% kabaka w'e Debiri, omu; kabaka w'e Gederi, omu; 06JOS012.014 The king of Hormah, one; the king of Arad, one; %%% kabaka w'e Kaluma, omu; kabaka w'e Yaladi, omu; 06JOS012.015 The king of Libnah, one; the king of Adullam, one; %%% kabaka w'e Libuna, omu; kabaka w'e Adulamu, omu; 06JOS012.016 The king of Makkedah, one; the king of Bethel, one; %%% kabaka w'e Makkeda, omu; kabaka w'e Beseri, omu; 06JOS012.017 The king of Tappuah, one; the king of Hepher, one; %%% kabaka w'e Tappua, omu; kabaka w'e Keferi; omu; 06JOS012.018 The king of Aphek, one; the king of Lasharon, one; %%% kabaka w'e Afeki, omu; kabaka w'e Lasaloni; omu; 06JOS012.019 The king of Madon, one; the king of Hazor, one; %%% kabaka w'e Madoni, omu; kabaka w'e Kazoli; omu; 06JOS012.020 The king of Shimronmeron, one; the king of Achshaph, one; %%% kabaka w'e Simulonimeroni, omu; kabaka w'e Akusafu, omu; 06JOS012.021 The king of Taanach, one; the king of Megiddo, one; %%% kabaka w'e Taanaki, omu; kabaka w'e Megiddo, omu; 06JOS012.022 The king of Kedesh, one; the king of Jokneam of Carmel, one; %%% kabaka w'e Kedesi, omu; kabaka w'e Yokuneamu ku Kalumeeri, omu; 06JOS012.023 The king of Dor in the coast of Dor, one; the king of the nations of Gilgal, one; %%% kabaka w'e Doli ku lusozi Doli, omu; kabaka w'e Goyiyimu mu Girugaali, omu; 06JOS012.024 The king of Tirzah, one: all the kings thirty and one. %%% kabaka w'e Tiruza, omu; bakabaka bonna amakumi asatu mu omu. 06JOS013.001 Now Joshua was old and stricken in years; and the LORD said unto him, Thou art old and stricken in years, and there remaineth yet very much land to be possessed. %%% Yoswa yali ng'akaddiye nga yaakamala emyaka mingi; Mukama n'amugamba nti Okaddiye, waakamala emyaka mingi, naye wasigaddewo ensi nnyingi nnyo okuliibwa. 06JOS013.002 This is the land that yet remaineth: all the borders of the Philistines, and all Geshuri, %%% Eno ye nsi esigaddewo: ebifo byonna eby'Abafirisuuti n'Abagesuli bonna; 06JOS013.003 From Sihor, which is before Egypt, even unto the borders of Ekron northward, which is counted to the Canaanite: five lords of the Philistines; the Gazathites, and the Ashdothites, the Eshkalonites, the Gittites, and the Ekronites; also the Avites: %%% okuva ku Sikoli, oguliraanye e Misiri, okutuuka ku nsalo ey'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ebalirwa Abakanani; abaami abataano ab'Abafirisuuti; Abagaza, n'Abasudodi, n'Abasukuloni, Abagitti, n'Abekuloni; 06JOS013.004 From the south, all the land of the Canaanites, and Mearah that is beside the Sidonians unto Aphek, to the borders of the Amorites: %%% era n'abavi, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala ekyali ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey'Abamoli: 06JOS013.005 And the land of the Giblites, and all Lebanon, toward the sunrising, from Baalgad under mount Hermon unto the entering into Hamath. %%% n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka ku Kamasi awayingirirwa: 06JOS013.006 All the inhabitants of the hill country from Lebanon unto Misrephothmaim, and all the Sidonians, them will I drive out from before the children of Israel: only divide thou it by lot unto the Israelites for an inheritance, as I have commanded thee. %%% abali mu nsi ey'ensozi bonna okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be Basidoni bonna; abo ndibagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri; kyokka ogigabire Isiraeri okuba obusika, nga bwe nnakulagira. 06JOS013.007 Now therefore divide this land for an inheritance unto the nine tribes, and the half tribe of Manasseh, %%% Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase. 06JOS013.008 With whom the Reubenites and the Gadites have received their inheritance, which Moses gave them, beyond Jordan eastward, even as Moses the servant of the LORD gave them; %%% Awamu n'oyo Abalewubeeni n'Abagaadi baaweebwa obusika bwabwe, Musa bwe yabawa, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa; 06JOS013.009 From Aroer, that is upon the bank of the river Arnon, and the city that is in the midst of the river, and all the plain of Medeba unto Dibon; %%% okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni; 06JOS013.010 And all the cities of Sihon king of the Amorites, which reigned in Heshbon, unto the border of the children of Ammon; %%% n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo ey'abaana ba Amoni; 06JOS013.011 And Gilead, and the border of the Geshurites and Maachathites, and all mount Hermon, and all Bashan unto Salcah; %%% ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka: 06JOS013.012 All the kingdom of Og in Bashan, which reigned in Ashtaroth and in Edrei, who remained of the remnant of the giants: for these did Moses smite, and cast them out. %%% obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafuga mu Asutaloosi ne mu Ederei (oyo ye yasigalawo mu Balefa abaasigalawo); kubanga abo Musa yabakuba, n'abagoba. 06JOS013.013 Nevertheless the children of Israel expelled not the Geshurites, nor the Maachathites: but the Geshurites and the Maachathites dwell among the Israelites until this day. %%% Naye abaana ba Isiraeri tebaagoba Abagesuli newakubadde Abamaakasi: naye Gesuli ne Maakasi ne babeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano. 06JOS013.014 Only unto the tribe of Levi he gave none inheritance; the sacrifices of the LORD God of Israel made by fire are their inheritance, as he said unto them. %%% Ekika kya Leevi kyokka teyakiwa busika; ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwe, nga bwe yamugamba. 06JOS013.015 And Moses gave unto the tribe of the children of Reuben inheritance according to their families. %%% Musa n'akiwa ekika eky'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS013.016 And their coast was from Aroer, that is on the bank of the river Arnon, and the city that is in the midst of the river, and all the plain by Medeba; %%% N'ensalo yaabwe yava ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba; 06JOS013.017 Heshbon, and all her cities that are in the plain; Dibon, and Bamothbaal, and Bethbaalmeon, %%% Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni: 06JOS013.018 And Jahaza, and Kedemoth, and Mephaath, %%% ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 06JOS013.019 And Kirjathaim, and Sibmah, and Zarethshahar in the mount of the valley, %%% ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu; 06JOS013.020 And Bethpeor, and Ashdothpisgah, and Bethjeshimoth, %%% ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi; 06JOS013.021 And all the cities of the plain, and all the kingdom of Sihon king of the Amorites, which reigned in Heshbon, whom Moses smote with the princes of Midian, Evi, and Rekem, and Zur, and Hur, and Reba, which were dukes of Sihon, dwelling in the country. %%% n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, Musa gwe yakuba awamu n'abaami ab'e Midiyaani Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, abakungu ba Sikoni, abaabeera mu nsi. 06JOS013.022 Balaam also the son of Beor, the soothsayer, did the children of Israel slay with the sword among them that were slain by them. %%% Era ne Balamu, omwana wa Byoli, omulaguzi, abaana ba Isiraeri ne bamutta n'ekitala awamu n’abalala abattibwa. 06JOS013.023 And the border of the children of Reuben was Jordan, and the border thereof. This was the inheritance of the children of Reuben after their families, the cities and the villages thereof. %%% N'ensalo ey'abaana ba Lewubeeni Yoludaani n'ensalo yaagwo. Obwo bwe bwali obusika bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu. 06JOS013.024 And Moses gave inheritance unto the tribe of Gad, even unto the children of Gad according to their families. %%% Musa n'akiwa ekika kya Gaadi, be baana ba Gaadi, ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS013.025 And their coast was Jazer, and all the cities of Gilead, and half the land of the children of Ammon, unto Aroer that is before Rabbah; %%% N'ensalo yaabwe Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba; 06JOS013.026 And from Heshbon unto Ramathmizpeh, and Betonim; and from Mahanaim unto the border of Debir; %%% era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamaumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri; 06JOS013.027 And in the valley, Betharam, and Bethnimrah, and Succoth, and Zaphon, the rest of the kingdom of Sihon king of Heshbon, Jordan and his border, even unto the edge of the sea of Chinnereth on the other side Jordan eastward. %%% ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba. 06JOS013.028 This is the inheritance of the children of Gad after their families, the cities, and their villages. %%% Obwo bwe busika bw'abaana ba Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu. 06JOS013.029 And Moses gave inheritance unto the half tribe of Manasseh: and this was the possession of the half tribe of the children of Manasseh by their families. %%% Musa n'agabira ekitundu eky'ekika kya Manase: n'omugabo gwali gwa kitundu eky'ekika ky'abaana ba Manase ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS013.030 And their coast was from Mahanaim, all Bashan, all the kingdom of Og king of Bashan, and all the towns of Jair, which are in Bashan, threescore cities: %%% N'ensalo yaabwe yava ku Makanayimu, e Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n'ebibuga byonna bya Yayiri, ebiri mu Basani; ebibuga nkaaga: 06JOS013.031 And half Gilead, and Ashtaroth, and Edrei, cities of the kingdom of Og in Bashan, were pertaining unto the children of Machir the son of Manasseh, even to the one half of the children of Machir by their families. %%% n'ekitundu ekimu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byali bya baana ba Makiri omwana wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS013.032 These are the countries which Moses did distribute for inheritance in the plains of Moab, on the other side Jordan, by Jericho, eastward. %%% Obwo bwe busika Musa bwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ku Yeriko, ku luuyi olw'ebuvanjuba. 06JOS013.033 But unto the tribe of Levi Moses gave not any inheritance: the LORD God of Israel was their inheritance, as he said unto them. %%% Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa busika: Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba. 06JOS014.001 And these are the countries which the children of Israel inherited in the land of Canaan, which Eleazar the priest, and Joshua the son of Nun, and the heads of the fathers of the tribes of the children of Israel, distributed for inheritance to them. %%% Ne buno bwe busika abaana ba Isiraeri bwe baalya mu nsi ya Kaaani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuni, n'emitwe gy'ennyumba eza bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baabagabira, 06JOS014.002 By lot was their inheritance, as the LORD commanded by the hand of Moses, for the nine tribes, and for the half tribe. %%% mu kalulu ak'obusika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa, eri ebika omwenda n'ekitundu eky'ekika. 06JOS014.003 For Moses had given the inheritance of two tribes and an half tribe on the other side Jordan: but unto the Levites he gave none inheritance among them. %%% Kubanga Musa yali ng'agabye obusika obw'ebika bibiri n'ekitundu eky'ekika emitala wa Yoludaani: naye Abaleevi teyabagabira busika mu bo. 06JOS014.004 For the children of Joseph were two tribes, Manasseh and Ephraim: therefore they gave no part unto the Levites in the land, save cities to dwell in, with their suburbs for their cattle and for their substance. %%% Kubanga abaana ba Yusufu baali ebika bibiri, Manase ne Efulayimu: ne batabawa mugabo mu nsi Abaleevi, wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye, ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe. 06JOS014.005 As the LORD commanded Moses, so the children of Israel did, and they divided the land. %%% Nga Mukama bwe yalagira Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo, ne bagabana ensi. 06JOS014.006 Then the children of Judah came unto Joshua in Gilgal: and Caleb the son of Jephunneh the Kenezite said unto him, Thou knowest the thing that the LORD said unto Moses the man of God concerning me and thee in Kadeshbarnea. %%% Abaana ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa mu Girugaali: ne Kalebu, omwana wa Yefune Omukenizi, n'amugamba nti Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa ku nze ne ku ggwe mu Kadesubanea. 06JOS014.007 Forty years old was I when Moses the servant of the LORD sent me from Kadeshbarnea to espy out the land; and I brought him word again as it was in mine heart. %%% Nali naakamala emyaka amakumi ana. Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; ne mmuleetera ebigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. 06JOS014.008 Nevertheless my brethren that went up with me made the heart of the people melt: but I wholly followed the LORD my God. %%% Naye baganda bange abaalinnya nange ne basaanuusa omutima gw'abantu: naye nze nagobererera ddala Mukama Katonda wange: 06JOS014.009 And Moses sware on that day, saying, Surely the land whereon thy feet have trodden shall be thine inheritance, and thy children's for ever, because thou hast wholly followed the LORD my God. %%% Musa n'alayira ku lunaku luli, ng'ayogera nti Mazima ensi gy'olinnyeemu ekigere kyo eriba busika eri ggwe n'eri abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogobereredde ddala Mukama Katonda wange. 06JOS014.010 And now, behold, the LORD hath kept me alive, as he said, these forty and five years, even since the LORD spake this word unto Moses, while the children of Israel wandered in the wilderness: and now, lo, I am this day fourscore and five years old. %%% Ne kaakano, laba, Mukama ampangaazizza, nga bwe yayogera, emyaka gino amakumi ana mu etaano, okuva ku biro biri Mukama lwe yakigamba Musa ekigambo ekyo, Isiraeri bwe yatambuliranga mu ddungu: ne kaakano, laba, leero naakamala emyaka kinaana mu etaano. 06JOS014.011 As yet I am as strong this day as I was in the day that Moses sent me: as my strength was then, even so is my strength now, for war, both to go out, and to come in. %%% Okutuusa kaakano nnina amaanyi leero nga bwe nnalina ku lunaku luli Musa lwe yantuma: ng'amaanyi gange bwe gaali mu biro biri, amaanyi gange bwe gali kaakano bwe gatyo, okulwana n'okufuluma n'okuyingira. 06JOS014.012 Now therefore give me this mountain, whereof the LORD spake in that day; for thou heardest in that day how the Anakims were there, and that the cities were great and fenced: if so be the LORD will be with me, then I shall be able to drive them out, as the LORD said. %%% Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki mwe baali, n'ebibuga ebinene ebiriko ebigo: wozzi Mukama alibeera nange, nange ndibagoba, nga Mukama bwe yayogera. 06JOS014.013 And Joshua blessed him, and gave unto Caleb the son of Jephunneh Hebron for an inheritance. %%% Yoswa n'amusabira omukisa; n'amuwa Kalebu omwana wa Yefune Kebbulooni okuba obusika. 06JOS014.014 Hebron therefore became the inheritance of Caleb the son of Jephunneh the Kenezite unto this day, because that he wholly followed the LORD God of Israel. %%% Kebbulooni kye lwava lubeera obusika bwa Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi, ne kaakano; kubanga yagobererera ddala Mukama Katonda wa Isiraeri. 06JOS014.015 And the name of Hebron before was Kirjatharba; which Arba was a great man among the Anakims. And the land had rest from war. %%% N'erinnya lya Kebbulooni edda lyali Kiriasualuba; Aluba oyo yali mukulu mu Banaki. Ensi n'ewummula okulwana. 06JOS015.001 This then was the lot of the tribe of the children of Judah by their families; even to the border of Edom the wilderness of Zin southward was the uttermost part of the south coast. %%% N'akalulu ak'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali kaatuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, ku nkomerero ey'obukiika obwo. 06JOS015.002 And their south border was from the shore of the salt sea, from the bay that looketh southward: %%% N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwo yava ennyanja ey'omunnyo gy'eva, ku kikono ekiraba mu bukiika obwa ddyo: 06JOS015.003 And it went out to the south side to Maalehacrabbim, and passed along to Zin, and ascended up on the south side unto Kadeshbarnea, and passed along to Hezron, and went up to Adar, and fetched a compass to Karkaa: %%% n'ebuna ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka ku Zini, n'erinnya ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olwa Kadesubanea, n'eyita kumpi ne Kezulooni, n'erinnya ku Addali, n'ekyamira ku Kaluka: 06JOS015.004 From thence it passed toward Azmon, and went out unto the river of Egypt; and the goings out of that coast were at the sea: this shall be your south coast. %%% n'eyita ku Azumoni, n'ekoma ku mugga ogw'e Misiri; n'enkomerero ez'ensalo zaali ku nnyanja: eyo y'eribeera ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo. 06JOS015.005 And the east border was the salt sea, even unto the end of Jordan. And their border in the north quarter was from the bay of the sea at the uttermost part of Jordan: %%% N'ensalo ey'ebuvanjuba yali nnyanja ya munnyo, okutuuka Yoludaani we gufukira. N'ensalo ey'oluuyi olw'obukiika obwa kkono yava ku kikono eky'ennyanja Yoludaani we gufukira: 06JOS015.006 And the border went up to Bethhogla, and passed along by the north of Betharabah; and the border went up to the stone of Bohan the son of Reuben: %%% n'ensalo n'erinnya ku Besukogula, n'eyita ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olwa Besualaba; n'ensalo n'erinnya n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni: 06JOS015.007 And the border went up toward Debir from the valley of Achor, and so northward, looking toward Gilgal, that is before the going up to Adummim, which is on the south side of the river: and the border passed toward the waters of Enshemesh, and the goings out thereof were at Enrogel: %%% n'ensalo n'erinnya ku Debiri ng'eva mu kiwonvu Akoli, n'egenda ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'eraba e Girugaali, ye mitala w'ekkubo eririnnya ku Adummimu, oluli emitala w'omugga ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: n'ensalo n'eyita n'etuuka ku mazzi ag'e Ensemesi, n'enkomerero yaayo yali ku Enerogeri: 06JOS015.008 And the border went up by the valley of the son of Hinnom unto the south side of the Jebusite; the same is Jerusalem: and the border went up to the top of the mountain that lieth before the valley of Hinnom westward, which is at the end of the valley of the giants northward: %%% ensalo n'erinnya mu kiwonvu eky'omwana wa Kinomu n'etuuka ku muyegooyego ogw'omu Yebusi ku luuyi olw obukiika obwa ddyo (ye Yerusaalemi): ensalo n'erinnya kn ntikko ku lusozi oluli awakkirwa mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw'ebugwanjuba, ekyali mu nkomerero ey'ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: 06JOS015.009 And the border was drawn from the top of the hill unto the fountain of the water of Nephtoah, and went out to the cities of mount Ephron; and the border was drawn to Baalah, which is Kirjathjearim: %%% ensalo n'ereetebwa okuva ku ntikko ey'olusozi okutuuka ku luzzi olw'amazzi ga Nefutoa, n'ebuna ebibuga eby'oku lusozi Efuloni; ensalo n'ereetebwa ku Baala (ye Kiriyasuyalimu): 06JOS015.010 And the border compassed from Baalah westward unto mount Seir, and passed along unto the side of mount Jearim, which is Chesalon, on the north side, and went down to Bethshemesh, and passed on to Timnah: %%% ensalo n'ekyama ng'eva e Baala ku luuyi olw'ebugwanjuba eri olusozi Seyiri, n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'olusozi Yealimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono (lwe Kyesaloni), n'ekka ku Besusemesi, n'eyita ku mabbali ag'e Timuna: 06JOS015.011 And the border went out unto the side of Ekron northward: and the border was drawn to Shicron, and passed along to mount Baalah, and went out unto Jabneel; and the goings out of the border were at the sea. %%% ensalo n'ebuna amabbali ag'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: ensalo n'ereetebwa ku Sikkeroni, n'eyita n’etuuka ku lusozi Baala, n'ekoma ku Yabuneeri; n'enkomerero z'ensalo zaali ku nayanja. 06JOS015.012 And the west border was to the great sea, and the coast thereof. This is the coast of the children of Judah round about according to their families. %%% N'ensalo ey'ebugwanjuba yatuuka ku nnyanja ennene, n’ensalo yaayo. Eyo ye nsalo ey'abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS015.013 And unto Caleb the son of Jephunneh he gave a part among the children of Judah, according to the commandment of the LORD to Joshua, even the city of Arba the father of Anak, which city is Hebron. %%% Ne Kalebu omwana wa Yefune n'amuwa omugabo mu baana ba Yuda, nga Mukama bwe yalagira Yoswa, ye Kiriasualuba, Aluba oyo yali kitaawe wa Anaki (ye Kebbulooni). 06JOS015.014 And Caleb drove thence the three sons of Anak, Sheshai, and Ahiman, and Talmai, the children of Anak. %%% Kalebu n'agobamu abaana abasatu aba Anaki, Sesayi, ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki. 06JOS015.015 And he went up thence to the inhabitants of Debir: and the name of Debir before was Kirjathsepher. %%% N'ava eyo, n'alinnya okulwanyisa abaali mu Debiri: n'erinnya lya Debiri edda lyali Kiriasuseferi. 06JOS015.016 And Caleb said, He that smiteth Kirjathsepher, and taketh it, to him will I give Achsah my daughter to wife. %%% Kalebu n'ayogera nti Anaakuba Kiriasuseferi n'akimenya, oyo naamuwa omuwala wange Akusa okumuwasa. 06JOS015.017 And Othniel the son of Kenaz, the brother of Caleb, took it: and he gave him Achsah his daughter to wife. %%% Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akimenya: n'amuwa Akusa muwala we okumuwasa. 06JOS015.018 And it came to pass, as she came unto him, that she moved him to ask of her father a field: and she lighted off her ass; and Caleb said unto her, What wouldest thou? %%% Awo, bwe yajja gy'ali, n'asabisa kitaawe olusuku: n'ava ku ndogoyi ye; Kalebu n'amugamba nti Oyagala ki? 06JOS015.019 Who answered, Give me a blessing; for thou hast given me a south land; give me also springs of water. And he gave her the upper springs, and the nether springs. %%% N'ayogera nti Mpa omukisa; kubanga ontadde mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, era mpa n'enzizi ez'amazzi. N'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga. 06JOS015.020 This is the inheritance of the tribe of the children of Judah according to their families. %%% Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS015.021 And the uttermost cities of the tribe of the children of Judah toward the coast of Edom southward were Kabzeel, and Eder, and Jagur, %%% N'ebibuga eby'enkomerero eby'ekika eky'abaana ba Yuda, eri ensalo ey'e Domu ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, byali Kabuzeeri, ne Ederi, ne Yaguli; 06JOS015.022 And Kinah, and Dimonah, and Adadah, %%% ne Kina, ne Dimona, ne Adada; 06JOS015.023 And Kedesh, and Hazor, and Ithnan, %%% ne Kedesi, ne Kazoli, ne Isunani; 06JOS015.024 Ziph, and Telem, and Bealoth, %%% Zifu, ne Teremu, ne Bealosi; 06JOS015.025 And Hazor, Hadattah, and Kerioth, and Hezron, which is Hazor, %%% ne Kazolukadatta, ne Keriosukezulooni (ye Kazoli); 06JOS015.026 Amam, and Shema, and Moladah, %%% Amamu, ne Sema, ne Molada; 06JOS015.027 And Hazargaddah, and Heshmon, and Bethpalet, %%% ne Kazalugadda, ne Kesumoni, ne Besupereti; 06JOS015.028 And Hazarshual, and Beersheba, and Bizjothjah, %%% ne Kazalusuali, ne Beeruseba, ne Biziosia: 06JOS015.029 Baalah, and Iim, and Azem, %%% Baala, ne Yimu, ne Ezemu; 06JOS015.030 And Eltolad, and Chesil, and Hormah, %%% ne Erutoladi, ne Kyesiri, ne Koluma; 06JOS015.031 And Ziklag, and Madmannah, and Sansannah, %%% ne Zikulagi, ne Madumanna, ne Samusanna; 06JOS015.032 And Lebaoth, and Shilhim, and Ain, and Rimmon: all the cities are twenty and nine, with their villages: %%% ne Lebaosi, ne Sirukimu, ne Ayini, ne Limmoni: ebibuga byonna biri amakumi abiri mu mwenda, n'ebyalo byabyo. 06JOS015.033 And in the valley, Eshtaol, and Zoreah, and Ashnah, %%% Mu nsi ey'ensenyi, Esutaoli, ne Zola, ne Asa; 06JOS015.034 And Zanoah, and Engannim, Tappuah, and Enam, %%% ne Zanowa, ne Engannimu, Tappua, ne Enamu; 06JOS015.035 Jarmuth, and Adullam, Socoh, and Azekah, %%% Yalamusi, ne Adulamu, Soko, ne Azeka; 06JOS015.036 And Sharaim, and Adithaim, and Gederah, and Gederothaim; fourteen cities with their villages: %%% ne Saalayimu, ne Adisaimu, ne Gedera, ne Gederosaimu; ebibuga kkumi n'ebina n'ebyalo byabyo. 06JOS015.037 Zenan, and Hadashah, and Migdalgad, %%% Zenani, ne Kadasa, ne Migudalugadi; 06JOS015.038 And Dilean, and Mizpeh, and Joktheel, %%% ne Dirani, ne Mizupe, ne Yokuseeri; 06JOS015.039 Lachish, and Bozkath, and Eglon, %%% Lalusi, ne Bozukasi, ne Eguloni; 06JOS015.040 And Cabbon, and Lahmam, and Kithlish, %%% ne Kabboni, ne Lamamu, ne Kitulisi; 06JOS015.041 And Gederoth, Bethdagon, and Naamah, and Makkedah; sixteen cities with their villages: %%% ne Gederosi, Besudagoni, ne Naama, ne Makkeda; ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo: 06JOS015.042 Libnah, and Ether, and Ashan, %%% Libuna ne Eseri, ne Asani; 06JOS015.043 And Jiphtah, and Ashnah, and Nezib, %%% ne Ifuta, ne Asuna, ne Nezibu; 06JOS015.044 And Keilah, and Achzib, and Mareshah; nine cities with their villages: %%% ne Keira, ne Akuzibu, ne Malesa; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo. 06JOS015.045 Ekron, with her towns and her villages: %%% Ekuloni n'ebibuga byamu n'ebyalo byakyo: 06JOS015.046 From Ekron even unto the sea, all that lay near Ashdod, with their villages: %%% okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, byonna ebiriraanye Asudodi, n'ebyalo byabyo. 06JOS015.047 Ashdod with her towns and her villages, Gaza with her towns and her villages, unto the river of Egypt, and the great sea, and the border thereof: %%% Asudodi, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo: okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'ennyanja ennene, n'ensalo yaayo. 06JOS015.048 And in the mountains, Shamir, and Jattir, and Socoh, %%% Ne mu nsi ey'ensozi, Samiri, ne Yattiri, ne Soko; 06JOS015.049 And Dannah, and Kirjathsannah, which is Debir, %%% ne Danna, ne Kiriasusanna (ye Debiri); 06JOS015.050 And Anab, and Eshtemoh, and Anim, %%% ne Anabu, ne Esutemo, ne Animu; 06JOS015.051 And Goshen, and Holon, and Giloh; eleven cities with their villages: %%% ne Goseni, ne Koloni, ne Giro; ebibuga kkumi n'ekimu n'ebyalo byabyo. 06JOS015.052 Arab, and Dumah, and Eshean, %%% Alabu, ne Duma, ne Esani; 06JOS015.053 And Janum, and Bethtappuah, and Aphekah, %%% ne Yanimu, ne Besutappua, ne Afeka; 06JOS015.054 And Humtah, and Kirjatharba, which is Hebron, and Zior; nine cities with their villages: %%% ne Kumuta, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni), ne Zioli; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo. 06JOS015.055 Maon, Carmel, and Ziph, and Juttah, %%% Mawoni, Kalumeeri, ne Zifu, ne Yuta; 06JOS015.056 And Jezreel, and Jokdeam, and Zanoah, %%% ne Yezuleeri, ne Yokudeamu, ne Zanoa; 06JOS015.057 Cain, Gibeah, and Timnah; ten cities with their villages: %%% Kaini, Gibea, ne Timuna; ebibuga kkumi n'ebyalo byabyo. 06JOS015.058 Halhul, Bethzur, and Gedor, %%% Kalukuli, Besuzuli, ne Gedoli; 06JOS015.059 And Maarath, and Bethanoth, and Eltekon; six cities with their villages: %%% ne Maalasi, ne Besuanosi, ne Erutekoni; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo. 06JOS015.060 Kirjathbaal, which is Kirjathjearim, and Rabbah; two cities with their villages: %%% Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ne Labba; ebibuga bibiri n'ebyalo byabyo. 06JOS015.061 In the wilderness, Betharabah, Middin, and Secacah, %%% Mu ddungu, Besualaba, Middini, ne Sekaka; 06JOS015.062 And Nibshan, and the city of Salt, and Engedi; six cities with their villages. %%% ne Nibusani, n'ekibuga eky'Omunnyo, ne Engedi; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo. 06JOS015.063 As for the Jebusites the inhabitants of Jerusalem, the children of Judah could not drive them out: but the Jebusites dwell with the children of Judah at Jerusalem unto this day. %%% Era Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi, abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu: naye Abayebusi ne babeera wamu n'abaana ba Yuda mu Yerusaalemi, ne kaakano. 06JOS016.001 And the lot of the children of Joseph fell from Jordan by Jericho, unto the water of Jericho on the east, to the wilderness that goeth up from Jericho throughout mount Bethel, %%% N'akalulu ak'abaana ba Yusufu kaava ku Yoludaani Yeriko we kiri, ku mazzi ag'e Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eririnnya nga liva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka ku Beseri; 06JOS016.002 And goeth out from Bethel to Luz, and passeth along unto the borders of Archi to Ataroth, %%% ne kava mu Beseri ne kabuna Eruzi, ne kayita ku nsalo ey'Abaluki mu Atalosi; 06JOS016.003 And goeth down westward to the coast of Japhleti, unto the coast of Bethhoron the nether, and to Gezer; and the goings out thereof are at the sea. %%% ne kakka ku luuyi olw'ebugwanjuba ku nsalo ey'Abayafuleti, ku nsalo ey'e Besukolooni eky'emmanga, ku Gezeri; n'enkomerero zaako zaali ku nnyanja. 06JOS016.004 So the children of Joseph, Manasseh and Ephraim, took their inheritance. %%% N'abaana ba Yusufu, Manase ne Efulayimu, ne batwala obusika bwabwe: 06JOS016.005 And the border of the children of Ephraim according to their families was thus: even the border of their inheritance on the east side was Atarothaddar, unto Bethhoron the upper; %%% N'ensalo ey'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali yali bw'eti: ensalo ey'obusika bwabwe ku luuyi olw'ebuvanjuba yali Atalosuaddali, okutuuka ku Besukolooni eky'engulu; 06JOS016.006 And the border went out toward the sea to Michmethah on the north side; and the border went about eastward unto Taanathshiloh, and passed by it on the east to Janohah; %%% ensalo n'ekoma ku luuyi olw'ebugwanjuba ku Mikumesasi ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'ebuvanjuba ku Taanasusuro, n'ekiyitako ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yanoa; 06JOS016.007 And it went down from Janohah to Ataroth, and to Naarath, and came to Jericho, and went out at Jordan. %%% n'eva mu Yanoa n'ekka ku Atalosi, ne ku Naala, n'etuuka ku Yeriko, n'ekoma ku Yoludaani: 06JOS016.008 The border went out from Tappuah westward unto the river Kanah; and the goings out thereof were at the sea. This is the inheritance of the tribe of the children of Ephraim by their families. %%% Okuva mu Tappua ensalo n'eyita ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku mugga Kana n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja. Buno bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali; 06JOS016.009 And the separate cities for the children of Ephraim were among the inheritance of the children of Manasseh, all the cities with their villages. %%% wamu n'ebibuga ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu wakati mu busika obw'abaana ba Manase, ebibuga byonna n'ebyalo byabyo. 06JOS016.010 And they drave not out the Canaanites that dwelt in Gezer: but the Canaanites dwell among the Ephraimites unto this day, and serve under tribute. %%% Ne batagoba Bakanani abaali mu Gezeri: naye Abakanani ne babeera wakati mu Efulayimu, ne kaakano, ne bafuuka abaddu okukola emirimu emiragire. 06JOS017.001 There was also a lot for the tribe of Manasseh; for he was the firstborn of Joseph; to wit, for Machir the firstborn of Manasseh, the father of Gilead: because he was a man of war, therefore he had Gilead and Bashan. %%% Ne kano ke kaali akalulu ak'ekika kya Manase kubanga oyo ye yali omubereberye wa Yusufu. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, kyeyava alya Gireyaadi ne Basani: 06JOS017.002 There was also a lot for the rest of the children of Manasseh by their families; for the children of Abiezer, and for the children of Helek, and for the children of Asriel, and for the children of Shechem, and for the children of Hepher, and for the children of Shemida: these were the male children of Manasseh the son of Joseph by their families. %%% N'akalulu ak'abaana ba Manase abalala kaali ng'enda zaabwe bwe zaali; ak'abaana ba Abiezeri, n'ak'abaana ba Kereki, n'ak'abaana ba Asuliyeri, n'ak'abaana ba Sekemu, n'ak'abaana ba Keferi, n'ak'abaana ba Semida: abo be baana ab'obulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS017.003 But Zelophehad, the son of Hepher, the son of Gilead, the son of Machir, the son of Manasseh, had no sons, but daughters: and these are the names of his daughters, Mahlah, and Noah, Hoglah, Milcah, and Tirzah. %%% Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala ba bulenzi, wabula ab'obuwala: na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, ne Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza 06JOS017.004 And they came near before Eleazar the priest, and before Joshua the son of Nun, and before the princes, saying, The LORD commanded Moses to give us an inheritance among our brethren. Therefore according to the commandment of the LORD he gave them an inheritance among the brethren of their father. %%% Ne basemberera Eriyazaali kabona, ne Yoswa omwana wa Nuni, n'abakulu, nga boogera nti Mukama yalagira Musa okutuwa obusika mu baganda baffe: kyeyava abawa, nga Mukama bwe yalagira, obusika mu baganda ba kitaabwe. 06JOS017.005 And there fell ten portions to Manasseh, beside the land of Gilead and Bashan, which were on the other side Jordan; %%% Ebitundu kkumi ne bituuka ku Manase, obutassaako nsi ya Gireyaadi ne Basani, eri emitala wa Yoludaani; 06JOS017.006 Because the daughters of Manasseh had an inheritance among his sons: and the rest of Manasseh's sons had the land of Gilead. %%% kubanga abaana ba Manase abawala baalya obusika mu baana be ab'obulenzi: n'ensi ya Gireyaadi abaana abalala aba Manase ne bagirya. 06JOS017.007 And the coast of Manasseh was from Asher to Michmethah, that lieth before Shechem; and the border went along on the right hand unto the inhabitants of Entappuah. %%% N'ensalo ya Manase yava mu Aseri n'etuuka ku Mikumesasi, Sekemu gye kiraba; ensalo n'eyita ku mukono ogwa ddyo, n'etuuka ku abo abaali mu Entappua. 06JOS017.008 Now Manasseh had the land of Tappuah: but Tappuah on the border of Manasseh belonged to the children of Ephraim; %%% Ensi ya Tappua Manase n'agirya: naye Tappua (ekyali) mu nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu ne bakirya. 06JOS017.009 And the coast descended unto the river Kanah, southward of the river: these cities of Ephraim are among the cities of Manasseh: the coast of Manasseh also was on the north side of the river, and the outgoings of it were at the sea: %%% Ensalo n'ekka n'etuuka ku mugga Kana, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'omugga: ebibuga ebyo Efulayimu n'abirya mu bibuga bya Manase: n'ensalo ya Manase yali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omugga, n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja: 06JOS017.010 Southward it was Ephraim's, and northward it was Manasseh's, and the sea is his border; and they met together in Asher on the north, and in Issachar on the east. %%% oluuyi olw'obukiika obwa ddyo Efulayimu n'alulya, n'oluuyi olw'obukiika obwa kkono Manase n'alulya, n'ennyanja yali nsalo ye; ne batuuka ku Aseri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ne ku Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba. 06JOS017.011 And Manasseh had in Issachar and in Asher Bethshean and her towns, and Ibleam and her towns, and the inhabitants of Dor and her towns, and the inhabitants of Endor and her towns, and the inhabitants of Taanach and her towns, and the inhabitants of Megiddo and her towns, even three countries. %%% Manase n'alya mu (nsi) ya Isakaali n'eya Aseri, Besuseani n'ebibuga byakyo, ne Ibuleamu n'ebibuga byakyo, n'abali mu Doli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Endoli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Taanaki n'ebibuga byakyo, n'abali mu Megiddo n'ebibuga byakyo, ze nsozi essatu. 06JOS017.012 Yet the children of Manasseh could not drive out the inhabitants of those cities; but the Canaanites would dwell in that land. %%% Naye abaana ba Manase ne batayinza kugobamu (abaali mu) bibuga ebyo; naye Abakanani ne baagala okubeera mu nsi eyo. 06JOS017.013 Yet it came to pass, when the children of Israel were waxen strong, that they put the Canaanites to tribute, but did not utterly drive them out. %%% Awo, abaana ba Isiraeri bwe baafuna amaanyi, ne bakoza Abakanani emirimu emiragire, ne batabagobera ddala. 06JOS017.014 And the children of Joseph spake unto Joshua, saying, Why hast thou given me but one lot and one portion to inherit, seeing I am a great people, forasmuch as the LORD hath blessed me hitherto? %%% Abaana ba Yusufu ne bagamba Yoswa, nga boogera nti Kiki ekikumpeesezza akalulu akamu kokka n'ekitundu ekimu okuba obusika, kuba ndi ggwanga ddene, kuba okutuuka leero Mukama yampanga omukisa? 06JOS017.015 And Joshua answered them, If thou be a great people, then get thee up to the wood country, and cut down for thyself there in the land of the Perizzites and of the giants, if mount Ephraim be too narrow for thee. %%% Yoswa n'abagamba nti Oba oli ggwanga ddene, golokoka ogende mu kibira, weesaayire omwo mu nsi ey'Abaperizi n'ey'Abalefa; kubanga ensi ey'ensozi ya Efulayimu ekufunza. 06JOS017.016 And the children of Joseph said, The hill is not enough for us: and all the Canaanites that dwell in the land of the valley have chariots of iron, both they who are of Bethshean and her towns, and they who are of the valley of Jezreel. %%% Abaana ba Yusufu ne boogera nti Ensi ey'ensozi tetumala: n'Abakanani bonna abali mu nsi ey'ekiwonvu balina amagaali ag'ebyuma, abo abali mu Besuseani n'ebibuga byakyo era n'abo abali mu kiwonvu eky'e Yezureeri. 06JOS017.017 And Joshua spake unto the house of Joseph, even to Ephraim and to Manasseh, saying, Thou art a great people, and hast great power: thou shalt not have one lot only: %%% Yoswa n'agamba ennyumba ya Yusufu, ye Efulayimu ne Manase, ng'ayogera nti Oli ggwanga ddene, era olina n'amaanyi mangi: toliba na kalulu kamu kokka: 06JOS017.018 But the mountain shall be thine; for it is a wood, and thou shalt cut it down: and the outgoings of it shall be thine: for thou shalt drive out the Canaanites, though they have iron chariots, and though they be strong. %%% naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago: kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi. 06JOS018.001 And the whole congregation of the children of Israel assembled together at Shiloh, and set up the tabernacle of the congregation there. And the land was subdued before them. %%% N'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, ne basimba eyo eweema ey'okusisinkanirangamu: ensi n'ejeemulukuka mu maaso gaabwe. 06JOS018.002 And there remained among the children of Israel seven tribes, which had not yet received their inheritance. %%% Era waasigalawo mu baana ba Isiraeri ebika musanvu, ebitannagabana busika bwabyo. 06JOS018.003 And Joshua said unto the children of Israel, How long are ye slack to go to possess the land, which the LORD God of your fathers hath given you? %%% Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa? 06JOS018.004 Give out from among you three men for each tribe: and I will send them, and they shall rise, and go through the land, and describe it according to the inheritance of them; and they shall come again to me. %%% Mwerondere abantu basatu buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonna, ne bagiwandiika bw'efaanana ng'obusika bwabwe bwe buli ne balyoka bajja gye ndi. 06JOS018.005 And they shall divide it into seven parts: Judah shall abide in their coast on the south, and the house of Joseph shall abide in their coasts on the north. %%% Era baligigaba ebitundu musanvu: Yuda alibeera mu nsalo ye ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ennyumba ya Yusufu eribeera mu nsalo yaabwe ku luuyi olw'obukiika obwa kkono. 06JOS018.006 Ye shall therefore describe the land into seven parts, and bring the description hither to me, that I may cast lots for you here before the LORD our God. %%% Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi (bye muwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe. 06JOS018.007 But the Levites have no part among you; for the priesthood of the LORD is their inheritance: and Gad, and Reuben, and half the tribe of Manasseh, have received their inheritance beyond Jordan on the east, which Moses the servant of the LORD gave them. %%% Kubanga Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe; kubanga obwakabona bwa Mukama bwe busika bwabwe: ne Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa. 06JOS018.008 And the men arose, and went away: and Joshua charged them that went to describe the land, saying, Go and walk through the land, and describe it, and come again to me, that I may here cast lots for you before the LORD in Shiloh. %%% Abantu ne bagolokoka ne bagenda: Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro: 06JOS018.009 And the men went and passed through the land, and described it by cities into seven parts in a book, and came again to Joshua to the host at Shiloh. %%% Abantu ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bagiwandiika buli kibuga mu bitundu musanvu mu kitabo, ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Siiro. 06JOS018.010 And Joshua cast lots for them in Shiloh before the LORD: and there Joshua divided the land unto the children of Israel according to their divisions. %%% Yoswa n'abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama: Yoswa n'abagabira eyo ensi abaana ba Isiraeri ng'emigabo gyabwe bwe gyali. 06JOS018.011 And the lot of the tribe of the children of Benjamin came up according to their families: and the coast of their lot came forth between the children of Judah and the children of Joseph. %%% Akalulu ak'ekika eky'abaana ba Benyamini ne kajja ng'enda zaabwe bwe zaali; n'ensalo ey'akalulu kaabwe ne kasookera wakati mu baana ba Yuda n'abaana ba Yusufu. 06JOS018.012 And their border on the north side was from Jordan; and the border went up to the side of Jericho on the north side, and went up through the mountains westward; and the goings out thereof were at the wilderness of Bethaven. %%% N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwa kkono yava ku Yoludaani: ensalo n'erinnya ku muyegooyego ogw'e Yeriko ku luuyi oiw'obukiika obwa kkono, n'erinnya mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba; n'enkomerero zaayo zaali ku lukoola olw'e Besaveni. 06JOS018.013 And the border went over from thence toward Luz, to the side of Luz, which is Bethel, southward; and the border descended to Atarothadar, near the hill that lieth on the south side of the nether Bethhoron. %%% Ensalo n'eva eyo n'eyita n'etuuka ku Luzi, ku muyegooyego ogw'e Luzi (ye Beseri), ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo; ensalo n'ekka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Besukolooni eky'emmanga. 06JOS018.014 And the border was drawn thence, and compassed the corner of the sea southward, from the hill that lieth before Bethhoron southward; and the goings out thereof were at Kirjathbaal, which is Kirjathjearim, a city of the children of Judah: this was the west quarter. %%% Ensalo n'ereetebwa ne yeetooloola ku luuyi olw'ebugwanjuba (n'egenda) obukiika obwa ddyo ng'eva ku lusozi Besukolooni gye kiraba obukiika obwa ddyo; n'enkomerero zaayo zaali ku Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ekibuga eky'abaana ba Yuda olwo luuyi olw'ebugwanjuba. 06JOS018.015 And the south quarter was from the end of Kirjathjearim, and the border went out on the west, and went out to the well of waters of Nephtoah: %%% N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo lwava Kiriyasuyalimu gye kikoma, ensalo n'ebuna ebugavanjuba, n'ebuna oluzzi olw'amazzi ga Nefutoa: 06JOS018.016 And the border came down to the end of the mountain that lieth before the valley of the son of Hinnom, and which is in the valley of the giants on the north, and descended to the valley of Hinnom, to the side of Jebusi on the south, and descended to Enrogel, %%% ensalo n'ekka olusozi gye lusimba oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, ekyali mu kiwonvu kya Lefa ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; n'ekka mu kiwonvu kya Kinomu, ku bbalama ery'omu Yebusi ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ekka ku Enerogeri; 06JOS018.017 And was drawn from the north, and went forth to Enshemesh, and went forth toward Geliloth, which is over against the going up of Adummim, and descended to the stone of Bohan the son of Reuben, %%% n'ereetebwa ku bukiika obwa kkono, n'ekoma mu Ensemesi, n'ebuna Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo eririnnya okugenda Adummimu; n'eyita n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni; 06JOS018.018 And passed along toward the side over against Arabah northward, and went down unto Arabah: %%% n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'ekka mu Alaba: 06JOS018.019 And the border passed along to the side of Bethhoglah northward: and the outgoings of the border were at the north bay of the salt sea at the south end of Jordan: this was the south coast. %%% ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: n'enkomerero z'ensalo zaali ku kikono eky'obukiika obwa kkono eky'ennyanja ey'omunnyo, Yoludaani we gufukira: eyo ye nsalo ey'obukiika obwa ddyo. 06JOS018.020 And Jordan was the border of it on the east side. This was the inheritance of the children of Benjamin, by the coasts thereof round about, according to their families. %%% Ne Yoludaani gwali nsalo yaayo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obusika obw'abaana ba Benyamini, mu nsalo zaabwo ezeetoolodde ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS018.021 Now the cities of the tribe of the children of Benjamin according to their families were Jericho, and Bethhoglah, and the valley of Keziz, %%% Era ebibuga eby'ekika eky'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali byali Yeriko, ne Besukogula, ne Emekkezizi; 06JOS018.022 And Betharabah, and Zemaraim, and Bethel, %%% ne Besualaba, ne Zemalaimu, ne Beseri; 06JOS018.023 And Avim, and Parah, and Ophrah, %%% ne Avvimu; ne Pala, ne Ofula; 06JOS018.024 And Chepharhaammonai, and Ophni, and Gaba; twelve cities with their villages: %%% ne Kefalamoni, ne Ofuni, ne Geba; ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo; 06JOS018.025 Gibeon, and Ramah, and Beeroth, %%% Gibyoni, ne Laama, ne Beerosi; 06JOS018.026 And Mizpeh, and Chephirah, and Mozah, %%% ne Mizupe, ne Kefira, ne Moza; 06JOS018.027 And Rekem, and Irpeel, and Taralah, %%% ne Lekemu, ne Irupeeri, ne Talala; 06JOS018.028 And Zelah, Eleph, and Jebusi, which is Jerusalem, Gibeath, and Kirjath; fourteen cities with their villages. This is the inheritance of the children of Benjamin according to their families. %%% ne Zeera, Erefu, n'Omuyebusi (ye Yerusaalemi), Gibeasi, (ne) Kiriasi; ebibuga kkumi na bina n'ebyalo byabyo. Obwo bwe busika obw'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS019.001 And the second lot came forth to Simeon, even for the tribe of the children of Simeon according to their families: and their inheritance was within the inheritance of the children of Judah. %%% N'akalulu ak'okubiri ne kagwira Simyoni kye kika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'obusika bwabwe bwali wakati mu busika obw'abaana ba Yuda. 06JOS019.002 And they had in their inheritance Beersheba, and Sheba, and Moladah, %%% Ne balya obusika bwabwe, Beeruseba oba Seba, ne Molada; 06JOS019.003 And Hazarshual, and Balah, and Azem, %%% ne Kazalusuali, ne Bala; ne Ezemu; 06JOS019.004 And Eltolad, and Bethul, and Hormah, %%% ne Erutoladi, ne Besuli, ne Koluma; 06JOS019.005 And Ziklag, and Bethmarcaboth, and Hazarsusah, %%% ne Zikulagi, ne Besumalukabosi ne Kazalususa; 06JOS019.006 And Bethlebaoth, and Sharuhen; thirteen cities and their villages: %%% ne Besulebaosi, ne Salukeni; ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo. 06JOS019.007 Ain, Remmon, and Ether, and Ashan; four cities and their villages: %%% Ayini, Limmoni, ne Eseri, ne Asani; ebibuga bina n'ebyalo byabyo: 06JOS019.008 And all the villages that were round about these cities to Baalathbeer, Ramath of the south. This is the inheritance of the tribe of the children of Simeon according to their families. %%% n'ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, Laama eky'obukiika obwa ddyo. Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: 06JOS019.009 Out of the portion of the children of Judah was the inheritance of the children of Simeon: for the part of the children of Judah was too much for them: therefore the children of Simeon had their inheritance within the inheritance of them. %%% Mu kitundu eky'abaana ba Yuda mwe mwava obusika obw'abaana ba Simyoni: kubanga omugabo ogw'abaana ba Yuda gwabalema okubuna: abaana ba Simyoni kyebaava balya obusika wakati mu busika bwabwe: 06JOS019.010 And the third lot came up for the children of Zebulun according to their families: and the border of their inheritance was unto Sarid: %%% N'akalulu ak'okusatu ne kajja ku baana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'ensalo ey'obusika bwabwe yatuuka ku Salidi: 06JOS019.011 And their border went up toward the sea, and Maralah, and reached to Dabbasheth, and reached to the river that is before Jokneam; %%% n'ensalo yaabwe n'erinnya ku luuyi olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku Malala, n'etuuka ku Dabbesesi; n'etuuka ku mugga Yokuneamu we kiraba; 06JOS019.012 And turned from Sarid eastward toward the sunrising unto the border of Chislothtabor, and then goeth out to Daberath, and goeth up to Japhia, %%% n'eva ku Salidi n'ekyamira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey'e Kisulosutaboli; n'ebuna ku Daberasi, n'erinnya ku Yafiya; 06JOS019.013 And from thence passeth on along on the east to Gittahhepher, to Ittahkazin, and goeth out to Remmonmethoar to Neah; %%% n'eva eyo n'eyita ku luuyi olw'ebavanjuba n'etuuka ku Gasukeferi, ku Esukazini; n'ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea. 06JOS019.014 And the border compasseth it on the north side to Hannathon: and the outgoings thereof are in the valley of Jiphthahel: %%% ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'etuuka ku Kannasoni n'enkomerero zaayo zaali ku kiwonvu Ifutakeri; 06JOS019.015 And Kattath, and Nahallal, and Shimron, and Idalah, and Bethlehem: twelve cities with their villages. %%% ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu: ebibuga kkumi na bibiri n'ebyalo byabyo. 06JOS019.016 This is the inheritance of the children of Zebulun according to their families, these cities with their villages. %%% Obwo bwe busika obw'abaana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo. 06JOS019.017 And the fourth lot came out to Issachar, for the children of Issachar according to their families. %%% Akalulu ak'okuna ne kakwata Isakaali, be baana ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS019.018 And their border was toward Jezreel, and Chesulloth, and Shunem, %%% N'ensalo yaabwe n'etuuka ku Yezuleeri, ne Kesulosi, ne Sunemu; 06JOS019.019 And Haphraim, and Shihon, and Anaharath, %%% ne Kafalaimu, ne Sioni, ne Anakalasi; 06JOS019.020 And Rabbith, and Kishion, and Abez, %%% ne Labbisi, ne Kisioni, ne Ebezi: 06JOS019.021 And Remeth, and Engannim, and Enhaddah, and Bethpazzez; %%% ne Lemesi, ne Engannimu, ne Enkadda, ne Besupazzezi; 06JOS019.022 And the coast reacheth to Tabor, and Shahazimah, and Bethshemesh; and the outgoings of their border were at Jordan: sixteen cities with their villages. %%% ensalo n'etuuka ku Taboli, ne Sakazuma, ne Besusemesi; n'enkomerero z'ensalo yaabwe zaali ku Yoludaani: ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo. 06JOS019.023 This is the inheritance of the tribe of the children of Issachar according to their families, the cities and their villages. %%% Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Isakaali: ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo. 06JOS019.024 And the fifth lot came out for the tribe of the children of Asher according to their families. %%% N'akalulu ak'okutaano ne kakwata ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS019.025 And their border was Helkath, and Hali, and Beten, and Achshaph, %%% N'ensalo yaabwe yali Kerukasi, ne Kali, ne Beteni, ne Akusafu; 06JOS019.026 And Alammelech, and Amad, and Misheal; and reacheth to Carmel westward, and to Shihorlibnath; %%% ne Alammereki, ne Amadi, ne Misali; n'etuuka ku Kalumeeri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Sikolulibunasi; 06JOS019.027 And turneth toward the sunrising to Bethdagon, and reacheth to Zebulun, and to the valley of Jiphthahel toward the north side of Bethemek, and Neiel, and goeth out to Cabul on the left hand, %%% n'ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Besudagoni, n'etuuka ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri; n'ebuna ku Kabuli ku mukono ogwa kkono, 06JOS019.028 And Hebron, and Rehob, and Hammon, and Kanah, even unto great Zidon; %%% ne Ebuloni, ne Lekobu, ne Kammoni, ne Kana, okutuuka ku Sidoni ekinene; 06JOS019.029 And then the coast turneth to Ramah, and to the strong city Tyre; and the coast turneth to Hosah; and the outgoings thereof are at the sea from the coast to Achzib: %%% ensalo n'ekyamira ku Laama, ne ku kibuga ekiriko ekigo Tuulo; ensalo n'ekyamira ku Kosa; n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu: 06JOS019.030 Ummah also, and Aphek, and Rehob: twenty and two cities with their villages. %%% era ne Uma, ne Afiki, ne Lekobu: ebibuga amakumi abiri mu bibiri n'ebyalo byabyo: 06JOS019.031 This is the inheritance of the tribe of the children of Asher according to their families, these cities with their villages. %%% Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo. 06JOS019.032 The sixth lot came out to the children of Naphtali, even for the children of Naphtali according to their families. %%% Akalulu ak'omukaaga ne kagwira abaana ba Nafataali, be baana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS019.033 And their coast was from Heleph, from Allon to Zaanannim, and Adami, Nekeb, and Jabneel, unto Lakum; and the outgoings thereof were at Jordan: %%% N'ensalo yaabwe yava ku Kerefu, okuva ku mwera oguli mu Zaanannimu, ne Adaminekebu, ne Yabuneeri, okutuuka ku Lakkumu; n'enkomerero zaayo zaali ku Yoludaani: 06JOS019.034 And then the coast turneth westward to Aznothtabor, and goeth out from thence to Hukkok, and reacheth to Zebulun on the south side, and reacheth to Asher on the west side, and to Judah upon Jordan toward the sunrising. %%% ensalo n’ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Azunosutaboli, n’eva eyo n'ebuna ku Kukkoki; n'etuuka ku Zebbulooni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'etuuka ku Aseri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Yuda ku Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba. 06JOS019.035 And the fenced cities are Ziddim, Zer, and Hammath, Rakkath, and Chinnereth, %%% N'ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, Zeri, ne Kammasi, Lakkasi, ne Kinneresi; 06JOS019.036 And Adamah, and Ramah, and Hazor, %%% ne Adama, ne Laama, ne Kazoli; 06JOS019.037 And Kedesh, and Edrei, and Enhazor, %%% ne Kesedi, ne Ederei, ne Enkazoli; 06JOS019.038 And Iron, and Migdalel, Horem, and Bethanath, and Bethshemesh; nineteen cities with their villages. %%% ne Ironi, ne Migudaleri, Kolemu, ne Besuanasi, ne Besusemesi; ebibuga kkumi na mwenda n'ebyalo byabyo. 06JOS019.039 This is the inheritance of the tribe of the children of Naphtali according to their families, the cities and their villages. %%% Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo. 06JOS019.040 And the seventh lot came out for the tribe of the children of Dan according to their families. %%% Akalulu ak'omusanvu ne kagwira ekika ky'abaana ba Daani ng'enda zaabwe bwe zaali. 06JOS019.041 And the coast of their inheritance was Zorah, and Eshtaol, and Irshemesh, %%% N'ensalo ey'obusika bwabwe yali Zola, ne Esutaoli, ne Irusemesi; 06JOS019.042 And Shaalabbin, and Ajalon, and Jethlah, %%% ne Saalabbini, ne Ayalooni, ne Isula; 06JOS019.043 And Elon, and Thimnathah, and Ekron, %%% ne Eroni, ne Timuna, ne Ekuloni; 06JOS019.044 And Eltekeh, and Gibbethon, and Baalath, %%% ne Eruteke, ne Gibbesoni, ne Baalasi; 06JOS019.045 And Jehud, and Beneberak, and Gathrimmon, %%% ne Yekudi, ne Beneberaki, ne Gasulimmoni; 06JOS019.046 And Mejarkon, and Rakkon, with the border before Japho. %%% ne Meyalakoni, ne Lakoni, n'ensalo Yafo gye kiraba. 06JOS019.047 And the coast of the children of Dan went out too little for them: therefore the children of Dan went up to fight against Leshem, and took it, and smote it with the edge of the sword, and possessed it, and dwelt therein, and called Leshem, Dan, after the name of Dan their father. %%% Ensalo ey'abaana ba Ddaani n'ebuna ensi etali yaabwe: kubanga abaana ba Ddaani baalinnya ne balwanyisa Lesemu, ne bakimenya, ne bakitta n'ekitala ne bakirya, ne bakibeeramu, ne bakituuma Lesemu Ddaani, lye linnya lya Ddaani jjajjaabwe. 06JOS019.048 This is the inheritance of the tribe of the children of Dan according to their families, these cities with their villages. %%% Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo. 06JOS019.049 When they had made an end of dividing the land for inheritance by their coasts, the children of Israel gave an inheritance to Joshua the son of Nun among them: %%% Bwe batyo bwe baamalira ddala okugaba ensi okuba obusika mu nsalo zaayo; n'abaana ba Isiraeri ne bawa Yoswa omwana wa Nuni obusika wakati waabwe: 06JOS019.050 According to the word of the LORD they gave him the city which he asked, even Timnathserah in mount Ephraim: and he built the city, and dwelt therein. %%% nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga kye yasaba, ye Timunasusera mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'azimba ekibuga n'abeera omwo. 06JOS019.051 These are the inheritances, which Eleazar the priest, and Joshua the son of Nun, and the heads of the fathers of the tribes of the children of Israel, divided for an inheritance by lot in Shiloh before the LORD, at the door of the tabernacle of the congregation. So they made an end of dividing the country. %%% Obwo bwe busika, Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuni n'emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagabanira n'obululu okuba obusika mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema gye baakuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabana ensi. 06JOS020.001 The LORD also spake unto Joshua, saying, %%% Mukama n'agamba Yoswa nti 06JOS020.002 Speak to the children of Israel, saying, Appoint out for you cities of refuge, whereof I spake unto you by the hand of Moses: %%% Ogambe abaana ba Isiraeri nti Mweterekere ebibuga eby'okuddukirangamu, bye nnabagambako mu mukono gwa Musa: 06JOS020.003 That the slayer that killeth any person unawares and unwittingly may flee thither: and they shall be your refuge from the avenger of blood. %%% omussi atta omuntu yenna nga tayagadde nga talabye alyoke abiddukirengamu: n'ebyo binaabanga ekiddukiro kyammwe eri omuwalanyi w'omusaayi. 06JOS020.004 And when he that doth flee unto one of those cities shall stand at the entering of the gate of the city, and shall declare his cause in the ears of the elders of that city, they shall take him into the city unto them, and give him a place, that he may dwell among them. %%% Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, anaabuuliranga ensonga ye mu matu g'abakadde ab'ekibuga ekyo; nabo banaamutwalanga mu kibuga gye bali, banaamuwanga ekifo, alyoke ababeeremu. 06JOS020.005 And if the avenger of blood pursue after him, then they shall not deliver the slayer up into his hand; because he smote his neighbour unwittingly, and hated him not beforetime. %%% Era oba ng'omuwalanyi w'omusaayi anaamugobereranga, tebaawengayo mussi mu mukono gwe: kubanga yakuba muntu munne nga talabye, nga tamukyawanga. 06JOS020.006 And he shall dwell in that city, until he stand before the congregation for judgment, and until the death of the high priest that shall be in those days: then shall the slayer return, and come unto his own city, and unto his own house, unto the city from whence he fled. %%% Naye anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa lw'anaayimiriranga mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango, okutuusa kabona asinga obukulu anaabeerangawo mu nnaku ezo lw'alifa: omussi n'alyoka addayo n'ajja mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, mu kibuga mwe yava okudduka. 06JOS020.007 And they appointed Kedesh in Galilee in mount Naphtali, and Shechem in mount Ephraim, and Kirjatharba, which is Hebron, in the mountain of Judah. %%% Ne batereka Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni) mu nsi ey'ensozi eya Yuda. 06JOS020.008 And on the other side Jordan by Jericho eastward, they assigned Bezer in the wilderness upon the plain out of the tribe of Reuben, and Ramoth in Gilead out of the tribe of Gad, and Golan in Bashan out of the tribe of Manasseh. %%% N'emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, baatereka Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase. 06JOS020.009 These were the cities appointed for all the children of Israel, and for the stranger that sojourneth among them, that whosoever killeth any person at unawares might flee thither, and not die by the hand of the avenger of blood, until he stood before the congregation. %%% Ebyo bye bibuga ebyalagirirwa abaana ba Isiraeri bonna, ne munnaggwanga abalimu, buli attanga omuntu yenna nga talabye addukire omwo, aleme okuttibwa n'omukono gw'omuwalanyi w'omusaayi, okutuusa lw'aliyimirira mu maaso g'ekibiina. 06JOS021.001 Then came near the heads of the fathers of the Levites unto Eleazar the priest, and unto Joshua the son of Nun, and unto the heads of the fathers of the tribes of the children of Israel; %%% Awo emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuni n'eri emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri: 06JOS021.002 And they spake unto them at Shiloh in the land of Canaan, saying, The LORD commanded by the hand of Moses to give us cities to dwell in, with the suburbs thereof for our cattle. %%% ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti Mukama yalagira mu mukono gwa Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe. 06JOS021.003 And the children of Israel gave unto the Levites out of their inheritance, at the commandment of the LORD, these cities and their suburbs. %%% Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo. 06JOS021.004 And the lot came out for the families of the Kohathites: and the children of Aaron the priest, which were of the Levites, had by lot out of the tribe of Judah, and out of the tribe of Simeon, and out of the tribe of Benjamin, thirteen cities. %%% N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi: n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu. 06JOS021.005 And the rest of the children of Kohath had by lot out of the families of the tribe of Ephraim, and out of the tribe of Dan, and out of the half tribe of Manasseh, ten cities. %%% N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi. 06JOS021.006 And the children of Gershon had by lot out of the families of the tribe of Issachar, and out of the tribe of Asher, and out of the tribe of Naphtali, and out of the half tribe of Manasseh in Bashan, thirteen cities. %%% N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani; ebibuga kkumi na bisatu. 06JOS021.007 The children of Merari by their families had out of the tribe of Reuben, and out of the tribe of Gad, and out of the tribe of Zebulun, twelve cities. %%% Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri. 06JOS021.008 And the children of Israel gave by lot unto the Levites these cities with their suburbs, as the LORD commanded by the hand of Moses. %%% N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa. 06JOS021.009 And they gave out of the tribe of the children of Judah, and out of the tribe of the children of Simeon, these cities which are here mentioned by name, %%% Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa: 06JOS021.010 Which the children of Aaron, being of the families of the Kohathites, who were of the children of Levi, had: for theirs was the first lot. %%% ne biba bya baana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi: kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka. 06JOS021.011 And they gave them the city of Arba the father of Anak, which city is Hebron, in the hill country of Judah, with the suburbs thereof round about it. %%% Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde. 06JOS021.012 But the fields of the city, and the villages thereof, gave they to Caleb the son of Jephunneh for his possession. %%% Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okubirya. 06JOS021.013 Thus they gave to the children of Aaron the priest Hebron with her suburbs, to be a city of refuge for the slayer; and Libnah with her suburbs, %%% Ne bawa abaana ba Alooni kabona Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.014 And Jattir with her suburbs, and Eshtemoa with her suburbs, %%% ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.015 And Holon with her suburbs, and Debir with her suburbs, %%% ne Koloni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.016 And Ain with her suburbs, and Juttah with her suburbs, and Bethshemesh with her suburbs; nine cities out of those two tribes. %%% ne Aini n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga mwenda mu bika ebyo ebibiri. 06JOS021.017 And out of the tribe of Benjamin, Gibeon with her suburbs, Geba with her suburbs, %%% Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.018 Anathoth with her suburbs, and Almon with her suburbs; four cities. %%% Anasosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. 06JOS021.019 All the cities of the children of Aaron, the priests, were thirteen cities with their suburbs. %%% Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo, byabyo ebiriraanye. 06JOS021.020 And the families of the children of Kohath, the Levites which remained of the children of Kohath, even they had the cities of their lot out of the tribe of Ephraim. %%% N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu. 06JOS021.021 For they gave them Shechem with her suburbs in mount Ephraim, to be a city of refuge for the slayer; and Gezer with her suburbs, %%% Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n’ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.022 And Kibzaim with her suburbs, and Bethhoron with her suburbs; four cities. %%% ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. 06JOS021.023 And out of the tribe of Dan, Eltekeh with her suburbs, Gibbethon with her suburbs, %%% Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gibbesoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.024 Aijalon with her suburbs, Gathrimmon with her suburbs; four cities. %%% Ayalooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. 06JOS021.025 And out of the half tribe of Manasseh, Tanach with her suburbs, and Gathrimmon with her suburbs; two cities. %%% Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri. 06JOS021.026 All the cities were ten with their suburbs for the families of the children of Kohath that remained. %%% Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n'ebyalo byabyo ebiriraanye. 06JOS021.027 And unto the children of Gershon, of the families of the Levites, out of the other half tribe of Manasseh they gave Golan in Bashan with her suburbs, to be a city of refuge for the slayer; and Beeshterah with her suburbs; two cities. %%% (Ne bawa) abaana ba Gerusoni; ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri. 06JOS021.028 And out of the tribe of Issachar, Kishon with her suburbs, Dabareh with her suburbs, %%% Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.029 Jarmuth with her suburbs, Engannim with her suburbs; four cities. %%% Yalamusi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. 06JOS021.030 And out of the tribe of Asher, Mishal with her suburbs, Abdon with her suburbs, %%% Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.031 Helkath with her suburbs, and Rehob with her suburbs; four cities. %%% Kerukasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. 06JOS021.032 And out of the tribe of Naphtali, Kedesh in Galilee with her suburbs, to be a city of refuge for the slayer; and Hammothdor with her suburbs, and Kartan with her suburbs; three cities. %%% Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bisatu. 06JOS021.033 All the cities of the Gershonites according to their families were thirteen cities with their suburbs. %%% Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo ebiriraanye. 06JOS021.034 And unto the families of the children of Merari, the rest of the Levites, out of the tribe of Zebulun, Jokneam with her suburbs, and Kartah with her suburbs, %%% (Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebiriraanye, 06JOS021.035 Dimnah with her suburbs, Nahalal with her suburbs; four cities. %%% Dimuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. 06JOS021.036 And out of the tribe of Reuben, Bezer with her suburbs, and Jahazah with her suburbs, %%% Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, 06JOS021.037 Kedemoth with her suburbs, and Mephaath with her suburbs; four cities. %%% Kedemosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. 06JOS021.038 And out of the tribe of Gad, Ramoth in Gilead with her suburbs, to be a city of refuge for the slayer; and Mahanaim with her suburbs, %%% Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 06JOS021.039 Heshbon with her suburbs, Jazer with her suburbs; four cities in all. %%% Kesuboni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; byonna ebibuga bina. 06JOS021.040 So all the cities for the children of Merari by their families, which were remaining of the families of the Levites, were by their lot twelve cities. %%% Ebyo byonna byali bibuga bya baana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri. 06JOS021.041 All the cities of the Levites within the possession of the children of Israel were forty and eight cities with their suburbs. %%% Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga amakumi ana mu munaana n'ebyalo byabyo ebiriraanye. 06JOS021.042 These cities were every one with their suburbs round about them: thus were all these cities. %%% Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde: bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna 06JOS021.043 And the LORD gave unto Israel all the land which he sware to give unto their fathers; and they possessed it, and dwelt therein. %%% Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu: 06JOS021.044 And the LORD gave them rest round about, according to all that he sware unto their fathers: and there stood not a man of all their enemies before them; the LORD delivered all their enemies into their hand. %%% Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe: so tewaali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe. 06JOS021.045 There failed not ought of any good thing which the LORD had spoken unto the house of Israel; all came to pass. %%% Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka. 06JOS022.001 Then Joshua called the Reubenites, and the Gadites, and the half tribe of Manasseh, %%% Awo Yoswa n'ayita Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, 06JOS022.002 And said unto them, Ye have kept all that Moses the servant of the LORD commanded you, and have obeyed my voice in all that I commanded you: %%% n'abagamba nti Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira: 06JOS022.003 Ye have not left your brethren these many days unto this day, but have kept the charge of the commandment of the LORD your God. %%% temulekanga baganda bammwe ennaku ezo ennyingi okutuuka leero, naye mukutte ekiragiro eky'etteeka lya Mukama Katonda wammwe. 06JOS022.004 And now the LORD your God hath given rest unto your brethren, as he promised them: therefore now return ye, and get you unto your tents, and unto the land of your possession, which Moses the servant of the LORD gave you on the other side Jordan. %%% Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba: kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani. 06JOS022.005 But take diligent heed to do the commandment and the law, which Moses the servant of the LORD charged you, to love the LORD your God, and to walk in all his ways, and to keep his commandments, and to cleave unto him, and to serve him with all your heart and with all your soul. %%% Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna. 06JOS022.006 So Joshua blessed them, and sent them away: and they went unto their tents. %%% Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasindika: ne bayingira mu weema zaabwe. 06JOS022.007 Now to the one half of the tribe of Manasseh Moses had given possession in Bashan: but unto the other half thereof gave Joshua among their brethren on this side Jordan westward. And when Joshua sent them away also unto their tents, then he blessed them, %%% Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani: naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba: Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa, 06JOS022.008 And he spake unto them, saying, Return with much riches unto your tents, and with very much cattle, with silver, and with gold, and with brass, and with iron, and with very much raiment: divide the spoil of your enemies with your brethren. %%% n'abagamba nti Mukomeewo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n’ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe. 06JOS022.009 And the children of Reuben and the children of Gad and the half tribe of Manasseh returned, and departed from the children of Israel out of Shiloh, which is in the land of Canaan, to go unto the country of Gilead, to the land of their possession, whereof they were possessed, according to the word of the LORD by the hand of Moses. %%% N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa. 06JOS022.010 And when they came unto the borders of Jordan, that are in the land of Canaan, the children of Reuben and the children of Gad and the half tribe of Manasseh built there an altar by Jordan, a great altar to see to. %%% Bwe baatuuka mu nsi eriraanye Yoludaani, eri mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ku Yoludaani, ekyoto ekinene ekitunuulirwa. 06JOS022.011 And the children of Israel heard say, Behold, the children of Reuben and the children of Gad and the half tribe of Manasseh have built an altar over against the land of Canaan, in the borders of Jordan, at the passage of the children of Israel. %%% N'abaana ba Isiraeri ne bawulira nga kyogerwa nti Laba, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase bazimbye ekyoto ku muyegooyego ogw'ensi ya Kanani, mu nsi eriraanye Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri. 06JOS022.012 And when the children of Israel heard of it, the whole congregation of the children of Israel gathered themselves together at Shiloh, to go up to war against them. %%% Abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, okulinnya okulwana nabo: 06JOS022.013 And the children of Israel sent unto the children of Reuben, and to the children of Gad, and to the half tribe of Manasseh, into the land of Gilead, Phinehas the son of Eleazar the priest, %%% Abaana ba Isiraeri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ye Gireyaadi; 06JOS022.014 And with him ten princes, of each chief house a prince throughout all the tribes of Israel; and each one was an head of the house of their fathers among the thousands of Israel. %%% era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu nkumi za Isiraeri. 06JOS022.015 And they came unto the children of Reuben, and to the children of Gad, and to the half tribe of Manasseh, unto the land of Gilead, and they spake with them, saying, %%% Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba nti 06JOS022.016 Thus saith the whole congregation of the LORD, What trespass is this that ye have committed against the God of Israel, to turn away this day from following the LORD, in that ye have builded you an altar, that ye might rebel this day against the LORD? %%% Ekibiina kya Mukama kyonna bwe kyogera bwe kiti nti Kyonoono ki kino kye mwayonoona eri Katonda wa Isiraeri, okukyama leero obutagoberera Mukama kubanga mwezimbira ekyoto, okujeemera Mukama leero? 06JOS022.017 Is the iniquity of Peor too little for us, from which we are not cleansed until this day, although there was a plague in the congregation of the LORD, %%% Obubi bwa Peoli tebwatumala, bwe tutanneerongoosa okutuusa leero, newakubadde nga kawumpuli yajja ku kibiina kya Mukama, 06JOS022.018 But that ye must turn away this day from following the LORD? and it will be, seeing ye rebel to day against the LORD, that to morrow he will be wroth with the whole congregation of Israel. %%% mmwe okuwalirizibwa okukyama leero obutagoberera Mukama? era kubanga mujeemera Mukama leero, enkya n'alyoka asunguwalira ekibiina kyonaa ekya Isiraeri. 06JOS022.019 Notwithstanding, if the land of your possession be unclean, then pass ye over unto the land of the possession of the LORD, wherein the LORD's tabernacle dwelleth, and take possession among us: but rebel not against the LORD, nor rebel against us, in building you an altar beside the altar of the LORD our God. %%% Naye era ensi ey'obutaka bwammwe oba nga si nnongoofu, kale musomoke muyingire mu nsi ey'obutaka bwa Mukama omuli eweema ya Mukama, mulye mu ffe: naye temujeemeranga Mukama, naffe temutujeemeranga nga muzimba ekyoto wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe. 06JOS022.020 Did not Achan the son of Zerah commit a trespass in the accursed thing, and wrath fell on all the congregation of Israel? and that man perished not alone in his iniquity. %%% Akani omwana wa Zeera teyayonoona kyonoono mu kyaterekebwa, obusungu ne bugwa ku kibiina kyonna ekya Isiraeri? omuntu oli n'atazikirira yekka mu bubi bwe. 06JOS022.021 Then the children of Reuben and the children of Gad and the half tribe of Manasseh answered, and said unto the heads of the thousands of Israel, %%% Awo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddamu ne bagamba emitwe gy'enkumi za Isiraeri 06JOS022.022 The LORD God of gods, the LORD God of gods, he knoweth, and Israel he shall know; if it be in rebellion, or if in transgression against the LORD, (save us not this day,) %%% nti Mukama, Katonda wa bakatonda, ye amanyi, era naye Isiraeri alimanya; singa mu kujeema oba mu kwonoona eri Mukama, (totulokola ffe leero,) 06JOS022.023 That we have built us an altar to turn from following the LORD, or if to offer thereon burnt offering or meat offering, or if to offer peace offerings thereon, let the LORD himself require it; %%% mwe twazimbira ekyoto okukyama obutagoberera Mukama; oba singa (twakizimba) okukiweerako ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo eky'obutta oba okukiweerako ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe Mukama yenayini akivunaane; 06JOS022.024 And if we have not rather done it for fear of this thing, saying, In time to come your children might speak unto our children, saying, What have ye to do with the LORD God of Israel? %%% era singa tetwakola bwe tutyo olw'okwegendereza, nga tulowooza, nga twogera nti Mu biro ebigenda okujja abaana bammwe baliyinza okugamba abaana baffe nti Mmwe mulina ki ne Mukama, Katonda wa Isiraeri? 06JOS022.025 For the LORD hath made Jordan a border between us and you, ye children of Reuben and children of Gad; ye have no part in the LORD: so shall your children make our children cease from fearing the LORD. %%% kubanga Mukama yafuula Yoludaani ensalo wakati mu ffe nammwe, mmwe abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi; temulina mugabo mu Mukama: bwe batyo abaana bammwe bandiresezza abaana baffe okutya Mukama. 06JOS022.026 Therefore we said, Let us now prepare to build us an altar, not for burnt offering, nor for sacrifice: %%% Kyetwava twogera nti Kale tweteeketeeke okwezimbira ekyoto, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka: 06JOS022.027 But that it may be a witness between us, and you, and our generations after us, that we might do the service of the LORD before him with our burnt offerings, and with our sacrifices, and with our peace offerings; that your children may not say to our children in time to come, Ye have no part in the LORD. %%% naye kiribeera mujulirwa wakati mu ffe nammwe, ne mu mirembe gyaffe egirituddirira, tulyoke tuweereze Mukama mu maaso ge n'ebyokye byaffe ne ssaddaaka zaffe n'ebyaffe ebiweebwayo olw'emirembe; abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe mu biro ebigenda okujja nti Temulina mugabo mu Mukama. 06JOS022.028 Therefore said we, that it shall be, when they should so say to us or to our generations in time to come, that we may say again, Behold the pattern of the altar of the LORD, which our fathers made, not for burnt offerings, nor for sacrifices; but it is a witness between us and you. %%% Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tulyoka twogera nti Laba ekifaananyi eky'ekyoto kya Mukama, bajjajjaffe kye baakola, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka; naye ye mujulirwa wakati mu ffe nammwe. 06JOS022.029 God forbid that we should rebel against the LORD, and turn this day from following the LORD, to build an altar for burnt offerings, for meat offerings, or for sacrifices, beside the altar of the LORD our God that is before his tabernacle. %%% Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, n'okukyama leero obutagoberera Mukama, okuzimba ekyoto olw'ebiweebwayo ebyokebwa, (oba) ebiweebwayo eby'obutta, oba olwa ssaddaaka, wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso g'eweema ye. 06JOS022.030 And when Phinehas the priest, and the princes of the congregation and heads of the thousands of Israel which were with him, heard the words that the children of Reuben and the children of Gad and the children of Manasseh spake, it pleased them. %%% Awo Finekaasi kabona n'abakulu b'ekibiina, gye mitwe gy'enkumi za Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye boogera, ne basanyuka nnyo. 06JOS022.031 And Phinehas the son of Eleazar the priest said unto the children of Reuben, and to the children of Gad, and to the children of Manasseh, This day we perceive that the LORD is among us, because ye have not committed this trespass against the LORD: now ye have delivered the children of Israel out of the hand of the LORD. %%% Ne Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona n'agamba abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase nti Leero tumanyi nga Mukama ali wakati mu ffe kubanga temwayonoona kyonoono ekyo eri Mukama: kaakano mubawonyezza abaana ba Isiraeri mu mukono gwa Mukama. 06JOS022.032 And Phinehas the son of Eleazar the priest, and the princes, returned from the children of Reuben, and from the children of Gad, out of the land of Gilead, unto the land of Canaan, to the children of Israel, and brought them word again. %%% Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo okuva eri abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne bajja mu nsi ya Kanani, eri abaana ba Isiraeri, ne babaddiza ebigambo. 06JOS022.033 And the thing pleased the children of Israel; and the children of Israel blessed God, and did not intend to go up against them in battle, to destroy the land wherein the children of Reuben and Gad dwelt. %%% Ebigambo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri; abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne batayogera nate bigambo bya kulinnya okubalwanyisa, okuzikiriza ensi abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi mwe baali. 06JOS022.034 And the children of Reuben and the children of Gad called the altar Ed: for it shall be a witness between us that the LORD is God. %%% Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne bayita ekyoto Edi: nti Ye mujulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda. 06JOS023.001 And it came to pass a long time after that the LORD had given rest unto Israel from all their enemies round about, that Joshua waxed old and stricken in age. %%% Awo ennaku nnyingi bwe zaayita Mukama bwe yawummuza Abaisiraeri mu balabe baabwe bonna abaabeetooloola, era Yoswa ng'akaddiye ng'amaze emyaka mingi; 06JOS023.002 And Joshua called for all Israel, and for their elders, and for their heads, and for their judges, and for their officers, and said unto them, I am old and stricken in age: %%% Yoswa n'alyoka abayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n'emitwe gyabwe, n'abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti Nze nkaddiye, mmaze emyaka mingi: 06JOS023.003 And ye have seen all that the LORD your God hath done unto all these nations because of you; for the LORD your God is he that hath fought for you. %%% nammwe mwalaba byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwanira. 06JOS023.004 Behold, I have divided unto you by lot these nations that remain, to be an inheritance for your tribes, from Jordan, with all the nations that I have cut off, even unto the great sea westward. %%% Laba, mbagabidde amawanga gano agasigalawo, okuba obusika obw'ebika byammwe, okuva ku Yoludaani, awamu n'amawanga gonna ge nnazikiriza, okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba. 06JOS023.005 And the LORD your God, he shall expel them from before you, and drive them from out of your sight; and ye shall possess their land, as the LORD your God hath promised unto you. %%% Ne Mukama Katonda wammwe ye alibasindika emberi yammwe n'abagoba mu maaso gammwe; nammwe mulirya ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba. 06JOS023.006 Be ye therefore very courageous to keep and to do all that is written in the book of the law of Moses, that ye turn not aside therefrom to the right hand or to the left; %%% Kale mugume nnyo emyoyo okwekuumanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, muleme okugakyamirangamu ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono; 06JOS023.007 That ye come not among these nations, these that remain among you; neither make mention of the name of their gods, nor cause to swear by them, neither serve them, nor bow yourselves unto them: %%% muleme okuyingiranga mu mawanga gano, agaasigala mu mmwe; newakubadde okwogeranga, ku linnya lya bakatonda baabwe, newakubadde okubalayizanga, newakubadde okubaweerezanga, newakubadde okubafukaamiriranga: 06JOS023.008 But cleave unto the LORD your God, as ye have done unto this day. %%% naye mwegattenga ne Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakolanga okutuusa leero: 06JOS023.009 For the LORD hath driven out from before you great nations and strong: but as for you, no man hath been able to stand before you unto this day. %%% Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi: naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa leero. 06JOS023.010 One man of you shall chase a thousand: for the LORD your God, he it is that fighteth for you, as he hath promised you. %%% Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba. 06JOS023.011 Take good heed therefore unto yourselves, that ye love the LORD your God. %%% Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe. 06JOS023.012 Else if ye do in any wise go back, and cleave unto the remnant of these nations, even these that remain among you, and shall make marriages with them, and go in unto them, and they to you: %%% Naye oba nga munaddanga ennyuma n'akatono, ne mwegattanga n'amawanga gano agaasigalawo, ge gaagano agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwanga nabo, ne muyingiranga gye bali, nabo (ne bayingiranga) gye muli: 06JOS023.013 Know for a certainty that the LORD your God will no more drive out any of these nations from before you; but they shall be snares and traps unto you, and scourges in your sides, and thorns in your eyes, until ye perish from off this good land which the LORD your God hath given you. %%% mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa. 06JOS023.014 And, behold, this day I am going the way of all the earth: and ye know in all your hearts and in all your souls, that not one thing hath failed of all the good things which the LORD your God spake concerning you; all are come to pass unto you, and not one thing hath failed thereof. %%% Era, laba, leero Ogenda olugendo ebintu byonna gye bigenda: nammwe mumanyi mu mitima gya mmwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonaa bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse. 06JOS023.015 Therefore it shall come to pass, that as all good things are come upon you, which the LORD your God promised you; so shall the LORD bring upon you all evil things, until he have destroyed you from off this good land which the LORD your God hath given you. %%% Awo olulituuka, ng'ebirungi byonna bwe byabajjira Mukama Katonda wammwe bye yabagamba, bw'atyo Mukama anaabaleeteranga ebibi byonna, okutuuka lw'alibazikiriza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa. 06JOS023.016 When ye have transgressed the covenant of the LORD your God, which he commanded you, and have gone and served other gods, and bowed yourselves to them; then shall the anger of the LORD be kindled against you, and ye shall perish quickly from off the good land which he hath given unto you. %%% Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa. 06JOS024.001 And Joshua gathered all the tribes of Israel to Shechem, and called for the elders of Israel, and for their heads, and for their judges, and for their officers; and they presented themselves before God. %%% Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne beeraga mu maaso ga Katonda. 06JOS024.002 And Joshua said unto all the people, Thus saith the LORD God of Israel, Your fathers dwelt on the other side of the flood in old time, even Terah, the father of Abraham, and the father of Nachor: and they served other gods. %%% Yoswa n'agamba abantu bonna nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Bajjajjammwe baabeera mu biro eby'edda emitala w'Omugga, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli: ne baweereza bakatonda abalala. 06JOS024.003 And I took your father Abraham from the other side of the flood, and led him throughout all the land of Canaan, and multiplied his seed, and gave him Isaac. %%% Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne nnyongera ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka. 06JOS024.004 And I gave unto Isaac Jacob and Esau: and I gave unto Esau mount Seir, to possess it; but Jacob and his children went down into Egypt. %%% Ne mpa Isaaka Yakobo ne Esawu: ne mpa Esawu olusozi Seyiri, okululya; Yakobo n’abaana be ne baserengeta mu Misiri. Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo, oluvannyuma ne mbaggyamu. 06JOS024.005 I sent Moses also and Aaron, and I plagued Egypt, according to that which I did among them: and afterward I brought you out. %%% Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo: oluvannyuma ne mbaggyamu. 06JOS024.006 And I brought your fathers out of Egypt: and ye came unto the sea; and the Egyptians pursued after your fathers with chariots and horsemen unto the Red sea. %%% Ne bajjajjammwe ne mbaggya mu Misiri: ne mutuuka ku nnyanja; n'Abamisiri ne bagoberera bajjajjammwe n'amagaali n'abeebagadde embalaasi ku Nnyanja Emmyufu. 06JOS024.007 And when they cried unto the LORD, he put darkness between you and the Egyptians, and brought the sea upon them, and covered them; and your eyes have seen what I have done in Egypt: and ye dwelt in the wilderness a long season. %%% Bwe baamukoowoola Mukama, n'assaawo ekizikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'abaleetako ennyanja, n’abasaanikira; n'amaaso gammwe gaalaba bye nnakola mu Misiri: nammwe ne mumala ennaku nnyingi mu ddungu. 06JOS024.008 And I brought you into the land of the Amorites, which dwelt on the other side Jordan; and they fought with you: and I gave them into your hand, that ye might possess their land; and I destroyed them from before you. %%% Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani; ne balwana nammwe: ne mbawa mu mukono gwammwe, n'ensi yaabwe ne mugirya; ne mbazikiriza mu maaso gammwe: 06JOS024.009 Then Balak the son of Zippor, king of Moab, arose and warred against Israel, and sent and called Balaam the son of Beor to curse you: %%% Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n’ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira: 06JOS024.010 But I would not hearken unto Balaam; therefore he blessed you still: so I delivered you out of his hand. %%% naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate: bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwe. 06JOS024.011 And ye went over Jordan, and came unto Jericho: and the men of Jericho fought against you, the Amorites, and the Perizzites, and the Canaanites, and the Hittites, and the Girgashites, the Hivites, and the Jebusites; and I delivered them into your hand. %%% Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko: n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbawa mu mukono gwammwe. 06JOS024.012 And I sent the hornet before you, which drave them out from before you, even the two kings of the Amorites; but not with thy sword, nor with thy bow. %%% Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, n'ebagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo. 06JOS024.013 And I have given you a land for which ye did not labour, and cities which ye built not, and ye dwell in them; of the vineyards and oliveyards which ye planted not do ye eat. %%% Ne mbawa ensi gy'otaakolera mirimu, n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; ensuku ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni ze mutaasimba ze mulyako. 06JOS024.014 Now therefore fear the LORD, and serve him in sincerity and in truth: and put away the gods which your fathers served on the other side of the flood, and in Egypt; and serve ye the LORD. %%% Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama. 06JOS024.015 And if it seem evil unto you to serve the LORD, choose you this day whom ye will serve; whether the gods which your fathers served that were on the other side of the flood, or the gods of the Amorites, in whose land ye dwell: but as for me and my house, we will serve the LORD. %%% Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli: naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama. 06JOS024.016 And the people answered and said, God forbid that we should forsake the LORD, to serve other gods; %%% Abantu ne baddamu ne bagamba nti Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala; 06JOS024.017 For the LORD our God, he it is that brought us up and our fathers out of the land of Egypt, from the house of bondage, and which did those great signs in our sight, and preserved us in all the way wherein we went, and among all the people through whom we passed: %%% kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati: 06JOS024.018 And the LORD drave out from before us all the people, even the Amorites which dwelt in the land: therefore will we also serve the LORD; for he is our God. %%% Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi: era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe. 06JOS024.019 And Joshua said unto the people, Ye cannot serve the LORD: for he is an holy God; he is a jealous God; he will not forgive your transgressions nor your sins. %%% Yoswa n'agamba abantu nti Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutuukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe. 06JOS024.020 If ye forsake the LORD, and serve strange gods, then he will turn and do you hurt, and consume you, after that he hath done you good. %%% Oba nga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abaggya, n'alyoka akyuka n'abakola obubi, n'abazikiriza, ng'amaze okubakola obulungi. 06JOS024.021 And the people said unto Joshua, Nay; but we will serve the LORD. %%% Abantu ne bagamba Yoswa nti Nedda, naye tunaaweerezanga Mukama. 06JOS024.022 And Joshua said unto the people, Ye are witnesses against yourselves that ye have chosen you the LORD, to serve him. And they said, We are witnesses. %%% Yoswa n'agamba abantu nti Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga. Ne boogera nti Tuli bajulirwa. 06JOS024.023 Now therefore put away, said he, the strange gods which are among you, and incline your heart unto the LORD God of Israel. %%% Kale kaakano muggyeewo bakatonda abaggya abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama Katonda wa Isiraeri. 06JOS024.024 And the people said unto Joshua, The LORD our God will we serve, and his voice will we obey. %%% Abantu ne bagamba Yoswa nti Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n’eddoboozi lye tunaaliwuliranga. 06JOS024.025 So Joshua made a covenant with the people that day, and set them a statute and an ordinance in Shechem. %%% Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu. 06JOS024.026 And Joshua wrote these words in the book of the law of God, and took a great stone, and set it up there under an oak, that was by the sanctuary of the LORD. %%% Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali ku kifo ekitukuvu ekya Mukama. 06JOS024.027 And Joshua said unto all the people, Behold, this stone shall be a witness unto us; for it hath heard all the words of the LORD which he spake unto us: it shall be therefore a witness unto you, lest ye deny your God. %%% Yoswa n'agamba abantu bonna nti Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gye tuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye: kyelinaavanga libeera mujulirwa gye tuli, muleme okwegaana Katonda wammwe. 06JOS024.028 So Joshua let the people depart, every man unto his inheritance. %%% Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe. 06JOS024.029 And it came to pass after these things, that Joshua the son of Nun, the servant of the LORD, died, being an hundred and ten years old. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'amaze emyaka kikumi mu kkumi. 06JOS024.030 And they buried him in the border of his inheritance in Timnathserah, which is in mount Ephraim, on the north side of the hill of Gaash. %%% Ne bamuziika mu nsalo ey'obutaka bwe mu Timunasusera, ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'olusozi Gaasi. 06JOS024.031 And Israel served the LORD all the days of Joshua, and all the days of the elders that overlived Joshua, and which had known all the works of the LORD, that he had done for Israel. %%% Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri. 06JOS024.032 And the bones of Joseph, which the children of Israel brought up out of Egypt, buried they in Shechem, in a parcel of ground which Jacob bought of the sons of Hamor the father of Shechem for an hundred pieces of silver: and it became the inheritance of the children of Joseph. %%% N'amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baggya mu Misiri ne bajja nago, ne bagaziika mu Sekemu, mu kitundu eky'ensi Yakobo kye yagula eri batabani ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ebitundu ebya ffeeza kikumi: ne gaba obusika obw'abaana ba Yusufu. 06JOS024.033 And Eleazar the son of Aaron died; and they buried him in a hill that pertained to Phinehas his son, which was given him in mount Ephraim. %%% Eriyazaali omwana wa Alooni n'afa; ne bamuziika ku lusozi lwa Finekaasi omwana we, lwe yaweebwa mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu. 07JDG001.001 Now after the death of Joshua it came to pass, that the children of Israel asked the LORD, saying, Who shall go up for us against the Canaanites first, to fight against them? %%% Awo Yoswa bwe yamala okufa, abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama nti Ani alisooka okulinnya eri Abakanani, okubalwanyisa? 07JDG001.002 And the LORD said, Judah shall go up: behold, I have delivered the land into his hand. %%% Mukama n'ayogera nti Yuda ye alirinnya: laba, ngabudde ensi mu mukono gwe. 07JDG001.003 And Judah said unto Simeon his brother, Come up with me into my lot, that we may fight against the Canaanites; and I likewise will go with thee into thy lot. So Simeon went with him. %%% Yuda n'agamba Simyoni muganda we nti Ogende nange mu mugabo gwange, tulwanyise Abakanani; era nange bwe ntyo ndigenda naawe mu mugabo gwo. Awo Simyoni n'agenda naye. 07JDG001.004 And Judah went up; and the LORD delivered the Canaanites and the Perizzites into their hand: and they slew of them in Bezek ten thousand men. %%% Yuda n'alinnya; Mukama n'agabula Abakanani n'Abaperizi mu mukono gwabwe: ne babattiramu mu Bezeki`abasajja kakumi. 07JDG001.005 And they found Adonibezek in Bezek: and they fought against him, and they slew the Canaanites and the Perizzites. %%% Ne basanga Adonibezeki mu Bezeki: ne bamulwanyisa, ne batta Abakanani n'Abaperizi. 07JDG001.006 But Adonibezek fled; and they pursued after him, and caught him, and cut off his thumbs and his great toes. %%% Naye Adonibezeki n'adduka; ne bamugoberera, ne bamukwata; ne bamusalako engalo ze ensajja n'ebigere bye ebisajja. 07JDG001.007 And Adonibezek said, Threescore and ten kings, having their thumbs and their great toes cut off, gathered their meat under my table: as I have done, so God hath requited me. And they brought him to Jerusalem, and there he died. %%% Edonibezeki n'ayogera nti Bakabaka ensanvu, abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja, baakuŋŋaanyizanga (emmere yaabwe) wansi w'emmeeza yange: nga nze bwe nnaakola, ne Katonda bw'ampalanye bw'atyo. Ne bamuleeta e Yerusaalemi, n'afiira eyo. 07JDG001.008 Now the children of Judah had fought against Jerusalem, and had taken it, and smitten it with the edge of the sword, and set the city on fire. %%% Abaana ba Yuda ne balwanyisa Yerusaalemi, ne bakimenya, ne bakitta n'ekitala, ne bookya ekibuga omuliro. 07JDG001.009 And afterward the children of Judah went down to fight against the Canaanites, that dwelt in the mountain, and in the south, and in the valley. %%% Awo bwe baamala, abaana ba Yuda ne baserengeta okulwanyisa Abakanani abaatuula mu nsi ey'ensozi, ne mu bukiika obwa ddyo, ne mu nsi ey'olusenyi. 07JDG001.010 And Judah went against the Canaanites that dwelt in Hebron: (now the name of Hebron before was Kirjatharba:) and they slew Sheshai, and Ahiman, and Talmai. %%% Ne Yuda ne balumba Abakanani abaatuula mu Kebbulooni: (naye erinnya 1ya Kebbulooni nga ye Kiriasualuba edda:) ne batta Sesayi, ne Akimaani; ne Talumaayi. 07JDG001.011 And from thence he went against the inhabitants of Debir: and the name of Debir before was Kirjathsepher: %%% N'avaayo, n'alumba abaatuula mu Debiri. (N'erinnya lya Debiri nga ye Kiriasuseferi edda.) 07JDG001.012 And Caleb said, He that smiteth Kirjathsepher, and taketh it, to him will I give Achsah my daughter to wife. %%% Kalebu n'ayogera nti Oyo alitta Kiriasuseferi n'akimenya, ndimuwa Akusa muwala wange okumuwasa. 07JDG001.013 And Othniel the son of Kenaz, Caleb's younger brother, took it: and he gave him Achsah his daughter to wife. %%% Osunieri, omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu omuto, n'akimenya: n'amuwa Akusa muwala we okumuwasa. 07JDG001.014 And it came to pass, when she came to him, that she moved him to ask of her father a field: and she lighted from off her ass; and Caleb said unto her, What wilt thou? %%% Awo bwe yajja (gy'ali), n'asabisa kitaawe ennimiro: n'ava ku ndogoyi ye; Kalebu n'amugamba nti Oyagala ki? 07JDG001.015 And she said unto him, Give me a blessing: for thou hast given me a south land; give me also springs of water. And Caleb gave her the upper springs and the nether springs. %%% N'amugamba nti Mpa omukisa; kubanga wanteeka mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, era, mpa n'enzizi ez'amazzi: Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga. 07JDG001.016 And the children of the Kenite, Moses' father in law, went up out of the city of palm trees with the children of Judah into the wilderness of Judah, which lieth in the south of Arad; and they went and dwelt among the people. %%% N'abaana ab'Omukeeni, mukoddomi wa Musa, ne balinnya nga bava mu kibuga eky'enkindu awamu n'abaana ba Yuda ne bagenda mu lukoola lwa Yuda, oluli ku bukiika obwa ddyo obwa Aladi; ne bagenda ne batuula n'abantu. 07JDG001.017 And Judah went with Simeon his brother, and they slew the Canaanites that inhabited Zephath, and utterly destroyed it. And the name of the city was called Hormah. %%% Ne Yuda n'agenda ne Simyoni muganda we, ne bakuba Abakanani abaatuula mu Zefasi, ne bakizikiririza ddala. N'erinnya ly'ebibuga lyayitibwa Koluma. 07JDG001.018 Also Judah took Gaza with the coast thereof, and Askelon with the coast thereof, and Ekron with the coast thereof. %%% Era Yuda n'amenya Ggaza n'ensalo yaakyo, ne Asukuloni n'ensalo yaakyo, ne Ekuloni n'ensalo yaakyo. 07JDG001.019 And the LORD was with Judah; and he drave out the inhabitants of the mountain; but could not drive out the inhabitants of the valley, because they had chariots of iron. %%% Era Mukama yali wamu ne Yuda; n'agoba (abaatuula) mu nsi ey'ensozi; kubanga teyayinza kugoba abaatuula mu kiwonvu, kubanga baali balina amagaali ag'ekyuma. 07JDG001.020 And they gave Hebron unto Caleb, as Moses said: and he expelled thence the three sons of Anak. %%% Ne bawa Kalebu Kebbulooni, nga Musa bwe yayogera: n'agobera omwo abaana abasatu aba Anaki. 07JDG001.021 And the children of Benjamin did not drive out the Jebusites that inhabited Jerusalem; but the Jebusites dwell with the children of Benjamin in Jerusalem unto this day. %%% N'abaana ba Benyamini ne batagoba Bayebusi abaatuula mu Yerusaalemi: naye Abayebusi ne batuula n'abaana ba Benyamini mu Yerusaalemi, ne leero. 07JDG001.022 And the house of Joseph, they also went up against Bethel: and the LORD was with them. %%% N'ennyumba ya Yusufu, era nabo ne balinnya ne balumba Beseri. Mukama n'aba wamu nabo. 07JDG001.023 And the house of Joseph sent to descry Bethel. (Now the name of the city before was Luz.) %%% N'ennyumba ya Yusufu ne batuma okuketta Beseri. (Erinnya ly'ekibuga edda lyali Luzi.) 07JDG001.024 And the spies saw a man come forth out of the city, and they said unto him, Shew us, we pray thee, the entrance into the city, and we will shew thee mercy. %%% N'abakessi ne balaba omusajja ng'ava mu kibuga, ne bamugamba nti Tulage, tukwegayiridde, we tunaayingirira mu kibuga, naffe tunaakukola bulungi. 07JDG001.025 And when he shewed them the entrance into the city, they smote the city with the edge of the sword; but they let go the man and all his family. %%% N'abalaga we banaayingirira mu kibuga, ne batta ekibuga n'ekitala; naye ne bata omusajja oyo n'ennyumba ye yonna. 07JDG001.026 And the man went into the land of the Hittites, and built a city, and called the name thereof Luz: which is the name thereof unto this day. %%% Omusajja oyo n'agenda mu nsi ey'Abakiiti, n'azimba ekibuga, n'akituuma erinnya lyakyo Luzi: lye linnya lyakyo ne leero. 07JDG001.027 Neither did Manasseh drive out the inhabitants of Bethshean and her towns, nor Taanach and her towns, nor the inhabitants of Dor and her towns, nor the inhabitants of Ibleam and her towns, nor the inhabitants of Megiddo and her towns: but the Canaanites would dwell in that land. %%% Manase n'atagoba (abaatuula) mu Besuseani n'ebyalo byakyo, ne mu Taanaki n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Doli n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Ibuleamu n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Megiddo n'ebyalo byakyo: naye Abakanani ne baagala okutuula mu nsi eyo: 07JDG001.028 And it came to pass, when Israel was strong, that they put the Canaanites to tribute, and did not utterly drive them out. %%% Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yafuna amaanyi, ne bakoza Abakanani emirimu, ne batabagobera ddala. 07JDG001.029 Neither did Ephraim drive out the Canaanites that dwelt in Gezer; but the Canaanites dwelt in Gezer among them. %%% Efulayimu n'atagoba Bakanani abaatuula mu Gezeri; naye Abakanani ne batuula mu Gezeri wakati mu bo: 07JDG001.030 Neither did Zebulun drive out the inhabitants of Kitron, nor the inhabitants of Nahalol; but the Canaanites dwelt among them, and became tributaries. %%% Zebbulooni n'atagoba abaatuula mu Kituloni, newakubadde abaatuula mu Nakaloli; naye Abakanani ne batuula mu bo; ne bafuuka ab'okuwanga omusolo. 07JDG001.031 Neither did Asher drive out the inhabitants of Accho, nor the inhabitants of Zidon, nor of Ahlab, nor of Achzib, nor of Helbah, nor of Aphik, nor of Rehob: %%% Aseri n'atagoba abaatuula mu Akko, newakubadde abaatuula mu Sidoni; newakubadde mu Alabu, newakubadde mu Akuzibu; newakubadde mu Keruba, newakubadde mu Affiki newakubadde mu Lekobu: 07JDG001.032 But the Asherites dwelt among the Canaanites, the inhabitants of the land: for they did not drive them out. %%% naye Abaseri ne batuula mu Bakanani, be baatuula mu nsi: kubanga tebaabagoba. 07JDG001.033 Neither did Naphtali drive out the inhabitants of Bethshemesh, nor the inhabitants of Bethanath; but he dwelt among the Canaanites, the inhabitants of the land: nevertheless the inhabitants of Bethshemesh and of Bethanath became tributaries unto them. %%% Nafutaali n'atagoba abaatuula mu Besusemesi, newakubadde abaatuula mu Besuanasi; naye n'atuula mu Bakanani, be baatuula mu nsi: era naye abaatuula mu Besusemesi ne mu Besuanasi ne bafuuka ab'okuwanga omusolo. 07JDG001.034 And the Amorites forced the children of Dan into the mountain: for they would not suffer them to come down to the valley: %%% Abamoli ne bagobera abaana ba Ddaani mu nsi ey'ensozi: kubanga tebaabaganya kuserengeta mu kiwonvu: 07JDG001.035 But the Amorites would dwell in mount Heres in Aijalon, and in Shaalbim: yet the hand of the house of Joseph prevailed, so that they became tributaries. %%% naye Abamoli baayagala okutuula ku lusozi Keresi, mu Ayalooni, ne mu Saalubimu: naye omukono gw'ennyumba ya Yusufu ne gusinga, n'okufuuka ne bafuuka ab'okuwanga omusolo 07JDG001.036 And the coast of the Amorites was from the going up to Akrabbim, from the rock, and upward. %%% N'ensalo ey'Abamoli yava awayambukirwa Akulabbimu, okuva ku lwazi, n'e ngulu. 07JDG002.001 And an angel of the LORD came up from Gilgal to Bochim, and said, I made you to go up out of Egypt, and have brought you unto the land which I sware unto your fathers; and I said, I will never break my covenant with you. %%% Ne malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'ayambuka e Bokimu. N'ayogera nti Nabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti Sirireka ndagaano yange (gye nnalagaana) nammwe: 07JDG002.002 And ye shall make no league with the inhabitants of this land; ye shall throw down their altars: but ye have not obeyed my voice: why have ye done this? %%% nammwe temulagaananga ndagaano n'abo abatuula mu nsi muno; mumenyemenyenga ebyoto byabwe: naye mmwe temuwulidde ddoboozi lyange: kiki ekibakozesa bwe mutyo? 07JDG002.003 Wherefore I also said, I will not drive them out from before you; but they shall be as thorns in your sides, and their gods shall be a snare unto you. %%% Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe; naye banaabanga ng’amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne bakatonda baabwe banaabanga kyambika gye muli. 07JDG002.004 And it came to pass, when the angel of the LORD spake these words unto all the children of Israel, that the people lifted up their voice, and wept. %%% Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira ebigambo ebyo abaana ba Isiraeri, abantu ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga. 07JDG002.005 And they called the name of that place Bochim: and they sacrificed there unto the LORD. %%% Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu: ne baweera eyo ssaddaaka eri Mukama. 07JDG002.006 And when Joshua had let the people go, the children of Israel went every man unto his inheritance to possess the land. %%% Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli muntu mu busika bwe okulya ensi. 07JDG002.007 And the people served the LORD all the days of Joshua, and all the days of the elders that outlived Joshua, who had seen all the great works of the LORD, that he did for Israel. %%% Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde, abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna ogwa Mukama omunene gwe yakolera Isiraeri. 07JDG002.008 And Joshua the son of Nun, the servant of the LORD, died, being an hundred and ten years old. %%% Yoswa omwana wa Nuni, omuddu wa Mukama n’afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi. 07JDG002.009 And they buried him in the border of his inheritance in Timnathheres, in the mount of Ephraim, on the north side of the hill Gaash. %%% Ne bamuziika mu nsalo y'obusika bwe mu Timunasukeresi, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi ku bukiika obwa kkono obw'olusozi Gaasi. 07JDG002.010 And also all that generation were gathered unto their fathers: and there arose another generation after them, which knew not the LORD, nor yet the works which he had done for Israel. %%% Era n'ab'emirembe egyo bonna ne bakuŋŋaanyizibwa eri bajjajjaabwe: ne wabaawo emirembe emirala egibaddirira, abataamanya Mukama, newakubadde omulimu gwe yakolera Isiraeri. 07JDG002.011 And the children of Israel did evil in the sight of the LORD, and served Baalim: %%% Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali: 07JDG002.012 And they forsook the LORD God of their fathers, which brought them out of the land of Egypt, and followed other gods, of the gods of the people that were round about them, and bowed themselves unto them, and provoked the LORD to anger. %%% Mukama ne bamuvaako, Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama. 07JDG002.013 And they forsook the LORD, and served Baal and Ashtaroth. %%% Mukama ne bamuvaako, ne baweereza Baali ne Asutaloosi. 07JDG002.014 And the anger of the LORD was hot against Israel, and he delivered them into the hands of spoilers that spoiled them, and he sold them into the hands of their enemies round about, so that they could not any longer stand before their enemies. %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'abatunda mu mikono gy'abalabe baabwe okwetooloola, n'okuyinza ne batayinza nate kuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe. 07JDG002.015 Whithersoever they went out, the hand of the LORD was against them for evil, as the LORD had said, and as the LORD had sworn unto them: and they were greatly distressed. %%% Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera; era nga Mukama bwe yabalayirira: ne beeraliikirira nnyo. 07JDG002.016 Nevertheless the LORD raised up judges, which delivered them out of the hand of those that spoiled them. %%% Mukama n'ayimusa abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga. 07JDG002.017 And yet they would not hearken unto their judges, but they went a whoring after other gods, and bowed themselves unto them: they turned quickly out of the way which their fathers walked in, obeying the commandments of the LORD; but they did not so. %%% Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga baagenda nga bayenda nga bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira: baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; bo tebaakola bwe batyo. 07JDG002.018 And when the LORD raised them up judges, then the LORD was with the judge, and delivered them out of the hand of their enemies all the days of the judge: for it repented the LORD because of their groanings by reason of them that oppressed them and vexed them. %%% Era Mukama bwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi, n’abalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe ennaku zonna ez'omulamuzi: kubanga Mukama ne yejjusa olw'okusinda kwabwe olw'abo abaabajooganga ne babeeraliikiriza. 07JDG002.019 And it came to pass, when the judge was dead, that they returned, and corrupted themselves more than their fathers, in following other gods to serve them, and to bow down unto them; they ceased not from their own doings, nor from their stubborn way. %%% Naye olwatuuka, omulamuzi bwe yamalanga okufa, ne baddanga ennyuma, ne bakola obubi okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe so tebaalekanga kkubo lyabwe kkakanyavu. 07JDG002.020 And the anger of the LORD was hot against Israel; and he said, Because that this people hath transgressed my covenant which I commanded their fathers, and have not hearkened unto my voice; %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri: n'ayogera nti Kubanga: eggwanga lino lisobezza ku ndagaano gye nnalagira bajjajjaabwe, so tebawulidde ddoboozi lyange; 07JDG002.021 I also will not henceforth drive out any from before them of the nations which Joshua left when he died: %%% nange okusooka leero kyennaavanga nnema okugoba mu maaso gaabwe ku mawanga Yoswa ge yafissaawo bwe yafa: 07JDG002.022 That through them I may prove Israel, whether they will keep the way of the LORD to walk therein, as their fathers did keep it, or not. %%% ndyoke nkeme Isiraeri olw'abo oba nga banaakwatanga ekkubo lya Mukama okulitambulirangamu, nga bajjajjaabwe bwe baalikwata, nantiki si weewaawo. 07JDG002.023 Therefore the LORD left those nations, without driving them out hastily; neither delivered he them into the hand of Joshua. %%% Awo Mukama n'aleka amawanga gali, obutabagoba mangu; so teyabagabula mu mukono gwa Yoswa. 07JDG003.001 Now these are the nations which the LORD left, to prove Israel by them, even as many of Israel as had not known all the wars of Canaan; %%% Gano ge mawanga Mukama ge yaleka okukema Isiraeri olw'abo, bonna ku bo abataamanya ntalo zonna eza Kanani; 07JDG003.002 Only that the generations of the children of Israel might know, to teach them war, at the least such as before knew nothing thereof; %%% kyokka emirembe gy'abaana ba Isiraeri bamanye, okubayigiriza okulwana, bo abaali tebamanyiiko n'akatono olubereberye; 07JDG003.003 Namely, five lords of the Philistines, and all the Canaanites, and the Sidonians, and the Hivites that dwelt in mount Lebanon, from mount Baalhermon unto the entering in of Hamath. %%% abakungu abataano ab'Abafirisuuti, n'Abakanani bonna, n'Abasidoni, n'Abakiivi abaatuulanga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuusa awayingirirwa mu Kamasi. 07JDG003.004 And they were to prove Israel by them, to know whether they would hearken unto the commandments of the LORD, which he commanded their fathers by the hand of Moses. %%% Era baali ba kukema Isiraeri, okumanya oba nga bagenda okuwulira ebiragiro bya Mukama bye yalagira bajjajjaabwe ku bwa Musa. 07JDG003.005 And the children of Israel dwelt among the Canaanites, Hittites, and Amorites, and Perizzites, and Hivites, and Jebusites: %%% Abaana ba Isiraeri ne batuula mu Bakanani; Omukiiti, n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi: 07JDG003.006 And they took their daughters to be their wives, and gave their daughters to their sons, and served their gods. %%% ne bawasa abawala baabwe okuba abakazi baabwe, ne bawa abawala baabwe bo eri batabani baabwe, ne baweereza bakatonda baabwe. 07JDG003.007 And the children of Israel did evil in the sight of the LORD, and forgat the LORD their God, and served Baalim and the groves. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe; ne baweerezanga Babaali ne Baasera. 07JDG003.008 Therefore the anger of the LORD was hot against Israel, and he sold them into the hand of Chushanrishathaim king of Mesopotamia: and the children of Israel served Chushanrishathaim eight years. %%% Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gwa Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya: abaana ba Isiraeri ne baweerereza Kusanurisasaimu emyaka munaana, 07JDG003.009 And when the children of Israel cried unto the LORD, the LORD raised up a deliverer to the children of Israel, who delivered them, even Othniel the son of Kenaz, Caleb's younger brother. %%% Awo abaana ba Isiraeri bwe bakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi abaana ba Isiraeri, eyabalokola, ye Osunieri mutabani wa Kenazi, ye mwanawaabo owa Kalebu. 07JDG003.010 And the Spirit of the LORD came upon him, and he judged Israel, and went out to war: and the LORD delivered Chushanrishathaim king of Mesopotamia into his hand; and his hand prevailed against Chushanrishathaim. %%% Omwoyo gwa Mukama ne gumujjira, n'alamula Isiraeri; n'agenda okutabaala, Mukama n'agabula Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya mu mukono gwe: omukono gwe ne guwangula Kusanurisasaimu. 07JDG003.011 And the land had rest forty years. And Othniel the son of Kenaz died. %%% Ensi n'ewummulira emyaka ana. Osunieri mutabani wa Kenazi n'afa: 07JDG003.012 And the children of Israel did evil again in the sight of the LORD: and the LORD strengthened Eglon the king of Moab against Israel, because they had done evil in the sight of the LORD. %%% Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi: Mukama n'awa Eguloni kabaka wa Moabu amaanyi okulwana ne Isiraeri, kubanga baali bakoze ekyali mu maaso ga Mukama ekibi. 07JDG003.013 And he gathered unto him the children of Ammon and Amalek, and went and smote Israel, and possessed the city of palm trees. %%% Ne yeekuŋŋaanyiza abaana ba Amoni ne Amaleki; n'agenda n'akuba Isiraeri, ne balya ekibuga eky'enkindu. 07JDG003.014 So the children of Israel served Eglon the king of Moab eighteen years. %%% Abaana ba Isiraeri ne baweerereza Eguloni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana. 07JDG003.015 But when the children of Israel cried unto the LORD, the LORD raised them up a deliverer, Ehud the son of Gera, a Benjamite, a man lefthanded: and by him the children of Israel sent a present unto Eglon the king of Moab. %%% Naye abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali owa kkono: abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu. 07JDG003.016 But Ehud made him a dagger which had two edges, of a cubit length; and he did gird it under his raiment upon his right thigh. %%% Ekudi ne yeeweeseza ekitala eky'obwogi obubiri, obuwanvu bwakyo omukono gumu; n'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. 07JDG003.017 And he brought the present unto Eglon king of Moab: and Eglon was a very fat man. %%% N'awa Eguloni kabaka wa Mowaabu ekirabo: Eguloni yali musajja munene nnyo. 07JDG003.018 And when he had made an end to offer the present, he sent away the people that bare the present. %%% Awo bwe yamala okuwa ekirabo; n'asindika abantu abaali beetisse ekirabo. 07JDG003.019 But he himself turned again from the quarries that were by Gilgal, and said, I have a secret errand unto thee, O king: who said, Keep silence. And all that stood by him went out from him. %%% Naye ye kennyini n'addayo ng'akoma ku mayinja agaali okumpi w'e Girugaali, n'ayogera nti Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama eri ggwe, kabaka. N'ayogera nti Musirike. Bonna abaali bayimiridde naye ne bafuluma ne bamuleka. 07JDG003.020 And Ehud came unto him; and he was sitting in a summer parlour, which he had for himself alone. And Ehud said, I have a message from God unto thee. And he arose out of his seat. %%% Ekudi n'ajja gy'ali; yali atudde omu yekka mu nju ye eya waggulu ey'okuwolawolerangamu. Ekudi n'ayogera nti Nnina ebigambo ebiva eri Katonda gy'oli. N'ayimuka ku ntebe ye. 07JDG003.021 And Ehud put forth his left hand, and took the dagger from his right thigh, and thrust it into his belly: %%% Ekudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'aggya ekitala ku kisambi ekya ddyo, n'amufumita olubuto: 07JDG003.022 And the haft also went in after the blade; and the fat closed upon the blade, so that he could not draw the dagger out of his belly; and the dirt came out. %%% n'ekiti nakyo ne kibuliramu; amasavu ne gazibikira ekitala we kiyingiridde, kubanga teyasowola kitala mu lubuto lwe, ne kiviiramu nnyuma. 07JDG003.023 Then Ehud went forth through the porch, and shut the doors of the parlour upon him, and locked them. %%% Awo Ekudi n'afuluma n'agenda mu kisasi, n'amuggalirawo enzigi z'enju eya waggulu, n'azisiba. 07JDG003.024 When he was gone out, his servants came; and when they saw that, behold, the doors of the parlour were locked, they said, Surely he covereth his feet in his summer chamber. %%% Awo bwe yamala okufuluma, abaddu be ne bajja; ne balaba, era, laba, enzigi z'enju eya waggulu nga zisibiddwa; ne boogera nti Aliŋŋanga abisse ku bigere bye mu nju ye ey'okuwolawolerangamu. 07JDG003.025 And they tarried till they were ashamed: and, behold, he opened not the doors of the parlour; therefore they took a key, and opened them: and, behold, their lord was fallen down dead on the earth. %%% Ne balindirira okutuusa ensonyi lwe zaabakwata: era, laba, nga taggulawo nzigi za nju eya waggulu; awo ne baddira ekisumuluzo, ne baziggulawo: era, laba, mukama waabwe ng'agudde wansi afudde. 07JDG003.026 And Ehud escaped while they tarried, and passed beyond the quarries, and escaped unto Seirath. %%% Ekudi n'awona nga bakyalindirira, n'ayita ku mayinja, n'awona n'atuuka e Seyiri. 07JDG003.027 And it came to pass, when he was come, that he blew a trumpet in the mountain of Ephraim, and the children of Israel went down with him from the mount, and he before them. %%% Awo olwatuuka, bwe yatuuka, n'afuuwa ekkondeere mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, abaana ba Isiraeri ne baserengetera wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi, naye ng'abakulembera. 07JDG003.028 And he said unto them, Follow after me: for the LORD hath delivered your enemies the Moabites into your hand. And they went down after him, and took the fords of Jordan toward Moab, and suffered not a man to pass over. %%% N'abagamba nti Mungoberere: kubanga Mukama agabudde abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe. Ne bamugoberera ne baserengeta, ne beekwata emisomoko gya Yoludaani nga balwana n'Abamowaabu, ne bataganya muntu kusomoka. 07JDG003.029 And they slew of Moab at that time about ten thousand men, all lusty, and all men of valour; and there escaped not a man. %%% Ne batta ku Mowaabu mu biro ebyo abasajja nga kakumi, buli muntu ow'amaanyi na buli muntu muzira; so tekwawonako muntu. 07JDG003.030 So Moab was subdued that day under the hand of Israel. And the land had rest fourscore years. %%% Awo Mowaabu n'ajeemulwa ku lunaku olwo n'omukono gwa Isiraeri: Ensi n'ewummulira emyaka kinaana. 07JDG003.031 And after him was Shamgar the son of Anath, which slew of the Philistines six hundred men with an ox goad: and he also delivered Israel. %%% Samugali mutabani wa Anasi n'addirira oyo, n'atta ku Bafirisuuti abasajja lukaaga n'omuwunda ogusoya ente: era naye n'alokola Isiraeri. 07JDG004.001 And the children of Israel again did evil in the sight of the LORD, when Ehud was dead. %%% Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, Ekudi bwe yamala okufa. 07JDG004.002 And the LORD sold them into the hand of Jabin king of Canaan, that reigned in Hazor; the captain of whose host was Sisera, which dwelt in Harosheth of the Gentiles. %%% Mukama n'abatunda mu mukono gwa Yabini kabaka wa Kanani, eyafugira mu Kazoli; omugabe w'eggye lye Sisera, eyatuula mu Kalosesi eky'ab'amawanga. 07JDG004.003 And the children of Israel cried unto the LORD: for he had nine hundred chariots of iron; and twenty years he mightily oppressed the children of Israel. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama: kubanga yali alina amagaali ag'ekyuma lwenda; n'ajoogera nnyo abaana ba Isiraeri emyaka abiri. 07JDG004.004 And Deborah, a prophetess, the wife of Lapidoth, she judged Israel at that time. %%% Era Debola, nnabbi, omukazi wa Lappidosi, ye yalamulanga Isiraeri mu biro ebyo. 07JDG004.005 And she dwelt under the palm tree of Deborah between Ramah and Bethel in mount Ephraim: and the children of Israel came up to her for judgment. %%% Era yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi: abaana ba Isiraeri ne bambukanga gy'ali okubasaliranga emisango. 07JDG004.006 And she sent and called Barak the son of Abinoam out of Kedeshnaphtali, and said unto him, Hath not the LORD God of Israel commanded, saying, Go and draw toward mount Tabor, and take with thee ten thousand men of the children of Naphtali and of the children of Zebulun? %%% N'atuma n'ayita Balaki, mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesunafutaali, n'amugamba nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, talagidde nti Genda mukuŋŋaanire eri olusozi Taboli, otwale naawe abasajja kakumi ku baana ba Nafutaali ne ku baana ba Zebbulooni? 07JDG004.007 And I will draw unto thee to the river Kishon Sisera, the captain of Jabin's army, with his chariots and his multitude; and I will deliver him into thine hand. %%% Nange ndiwalulira gy'oli eri omugga Kisoni Sisera omugabe w'eggye lya Yabini, n'amagaali ge n'ekibiina kye; nange ndimugabula mu mukono gwo. 07JDG004.008 And Barak said unto her, If thou wilt go with me, then I will go: but if thou wilt not go with me, then I will not go. %%% Balaki n'amugamba nti Ggwe bw'oligenda nange, kale ndigenda: naye bw'otoligenda nange ggwe, sirigenda. 07JDG004.009 And she said, I will surely go with thee: notwithstanding the journey that thou takest shall not be for thine honour; for the LORD shall sell Sisera into the hand of a woman. And Deborah arose, and went with Barak to Kedesh. %%% N'agamba nti Mazima ndigenda naawe: naye olugendo lw'ogenda teruliba lwa kitiibwa kyo; kubanga Mukama alitunda Sisera mu mukono gw'omukazi: Debola n'agolokoka n'agenda ne Balaki e Kedesi. 07JDG004.010 And Barak called Zebulun and Naphtali to Kedesh; and he went up with ten thousand men at his feet: and Deborah went up with him. %%% Balaki n'ayita Zebbulooni ne Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi; ne bayambukayo abasajja kakumi nga balinnya mu bigere bye: Debola n'ayambukira wamu naye. 07JDG004.011 Now Heber the Kenite, which was of the children of Hobab the father in law of Moses, had severed himself from the Kenites, and pitched his tent unto the plain of Zaanaim, which is by Kedesh. %%% Era Keberi Omukeeni yali ayawukanye n'Abakeeni, be baana ba Kobabu mukoddomi wa Musa, n'azimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi. 07JDG004.012 And they shewed Sisera that Barak the son of Abinoam was gone up to mount Tabor. %%% Ne babuulira Sisera nga Balaki mutabani wa Abinoamu alinnye ku lusozi Taboli. 07JDG004.013 And Sisera gathered together all his chariots, even nine hundred chariots of iron, and all the people that were with him, from Harosheth of the Gentiles unto the river of Kishon. %%% Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda, n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni. 07JDG004.014 And Deborah said unto Barak, Up; for this is the day in which the LORD hath delivered Sisera into thine hand: is not the LORD gone out before thee? So Barak went down from mount Tabor, and ten thousand men after him. %%% Debola n'agamba Balaki nti Golokoka; kubanga leero Mukama lw'agabudde Sisera mu mukono gwo: Mukama takukulembedde okutabaala? Awo Balaki n'ava ku lusozi Taboli, abasajja kakumi ne bamugoberera. 07JDG004.015 And the LORD discomfited Sisera, and all his chariots, and all his host, with the edge of the sword before Barak; so that Sisera lighted down off his chariot, and fled away on his feet. %%% Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'obwogi bw'ekitala mu maaso ga Balaki; Sisera n'ava mu ggaali lye, n'adduka n'ebigere. 07JDG004.016 But Barak pursued after the chariots, and after the host, unto Harosheth of the Gentiles: and all the host of Sisera fell upon the edge of the sword; and there was not a man left. %%% Naye Balaki n'agoberera amagaali n'eggye okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga: n'eggye lya Sisera lyonna obwogi bw'ekitala ne bulimalawo, tewaasigala muntu. 07JDG004.017 Howbeit Sisera fled away on his feet to the tent of Jael the wife of Heber the Kenite: for there was peace between Jabin the king of Hazor and the house of Heber the Kenite. %%% Naye Sisera n'adduka n'ebigere n'atuuka mu weema ya Yayeeri mukazi wa Keberi Omukeeni: kubanga Yabini kabaka we Kazoli n'ennyumba ya Keberi Omukeeni baali balina emirembe: 07JDG004.018 And Jael went out to meet Sisera, and said unto him, Turn in, my lord, turn in to me; fear not. And when he had turned in unto her into the tent, she covered him with a mantle. %%% Yayeeri n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti Kyama, mukama wange, oyingire ewange, totya. N'akyama n'ayingira ewuwe mu weema n'amubikkako ekikunta. 07JDG004.019 And he said unto her, Give me, I pray thee, a little water to drink; for I am thirsty. And she opened a bottle of milk, and gave him drink, and covered him. %%% N'amugamba nti Nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe, kubanga ennyonta ennuma. N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n’amubikkako. 07JDG004.020 Again he said unto her, Stand in the door of the tent, and it shall be, when any man doth come and enquire of thee, and say, Is there any man here? that thou shalt say, No. %%% N'amugamba nti yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti Omusajja yenna ali muno? naawe onooyogera nti Nedda. 07JDG004.021 Then Jael Heber's wife took a nail of the tent, and took an hammer in her hand, and went softly unto him, and smote the nail into his temples, and fastened it into the ground: for he was fast asleep and weary. So he died. %%% Awo Yayeeri mukazi wa Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n’ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa. 07JDG004.022 And, behold, as Barak pursued Sisera, Jael came out to meet him, and said unto him, Come, and I will shew thee the man whom thou seekest. And when he came into her tent, behold, Sisera lay dead, and the nail was in his temples. %%% Era, laba, Balaki ng'agoberera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti jjangu, nange n'akulaga omusajja gw'onoonya. N'ajja gy'ali; era, laba, Sisera yali agalamidde afudde, n'enkondo ng'eri mu kyenyi kye. 07JDG004.023 So God subdued on that day Jabin the king of Canaan before the children of Israel. %%% Bw'atyo Katonda n'ajeemula ku lunaku olwo Yabini kabaka wa Kanani mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 07JDG004.024 And the hand of the children of Israel prospered, and prevailed against Jabin the king of Canaan, until they had destroyed Jabin king of Canaan. %%% Omukono gw'abaana ba Isiraeri ne gweyongerayongera okuwangula Yabini kabaka wa Kanani, okutuusa lwe baamala okuzikiriza Yabini kabaka wa Kanani. 07JDG005.001 Then sang Deborah and Barak the son of Abinoam on that day, saying, %%% Debola ne Balaki mutabani wa Abinoamu ne balyoka bayimba ku lunaku olwo nti 07JDG005.002 Praise ye the LORD for the avenging of Israel, when the people willingly offered themselves. %%% Kubanga abakulembeze baakulembera mu Isiraeri, Kubanga abantu beegabula bokka nga baagala, Mumwebaze Mukama: 07JDG005.003 Hear, O ye kings; give ear, O ye princes; I, even I, will sing unto the LORD; I will sing praise to the LORD God of Israel. %%% Muwulire, mmwe bakabaka; mutege amatu, mmwe abalangira; Nze, nze, naayimbira Mukama; Naayimba okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri. 07JDG005.004 LORD, when thou wentest out of Seir, when thou marchedst out of the field of Edom, the earth trembled, and the heavens dropped, the clouds also dropped water. %%% Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri, Bwe wava mu nnimiro ya Edomu okutabaala: Ensi n'ekankana, era n'eggulu ne litonnya, Weewaawo, ebire ne bitonnya amazzi. 07JDG005.005 The mountains melted from before the LORD, even that Sinai from before the LORD God of Israel. %%% Ensozi ne zikulukutira mu maaso ga Mukama, Weewaawo, era ne Sinaayi oli mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isiraeri. 07JDG005.006 In the days of Shamgar the son of Anath, in the days of Jael, the highways were unoccupied, and the travellers walked through byways. %%% Mu mirembe gya Samugali mutabani wa Anasi, Mu mirembe gya Yayeeri, enguudo tezaalimu bantu, Abatambuze ne batambuliranga mu mpenda: 07JDG005.007 The inhabitants of the villages ceased, they ceased in Israel, until that I Deborah arose, that I arose a mother in Israel. %%% Abafuga baggwaawo mu Isiraeri, baggwaawo, Okutuusa nze Debola lwe nnabaawo. Lwe nnabaawo nze omukadde mu Isiraeri. 07JDG005.008 They chose new gods; then was war in the gates: was there a shield or spear seen among forty thousand in Israel? %%% Baalonda bakatonda abaggya; Entalo ne ziryoka zibeera mu miryango: Waalabika engabo oba kitala; Mu basajja bukumi buna mu Isiraeri? 07JDG005.009 My heart is toward the governors of Israel, that offered themselves willingly among the people. Bless ye the LORD. %%% Omutima gwange gubalowooza abafuga Isiraeri, Abeegabula bokka mu bantu nga baagala: Mumwebaze Mukama. 07JDG005.010 Speak, ye that ride on white asses, ye that sit in judgment, and walk by the way. %%% Mukyogereko, mmwe abeebagala ku ndogoyi enjeru, Mmwe abatuula ku mikeeka emidalize, Nammwe abatambula mu kkubo. 07JDG005.011 They that are delivered from the noise of archers in the places of drawing water, there shall they rehearse the righteous acts of the LORD, even the righteous acts toward the inhabitants of his villages in Israel: then shall the people of the LORD go down to the gates. %%% Eddoboozi ly'abo abalasa obusaale nga libali wala, mu bifo mwe basenera amazzi, Eyo gye balyatulira ebikolwa bya Mukama eby'obutuukirivu, Ebikolwa bye eby'obutuukirivu ng'afugira mu Isiraeri. Abantu ba Mukama ne balyoka baserengeta ne bagenda ku miryango. 07JDG005.012 Awake, awake, Deborah: awake, awake, utter a song: arise, Barak, and lead thy captivity captive, thou son of Abinoam. %%% Zuukuka, zuukuka, Debola; Zuukuka, zuukuka, yatula oluyimba: Golokoka, Balaki, oyise obusibe bwo nga busibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu. 07JDG005.013 Then he made him that remaineth have dominion over the nobles among the people: the LORD made me have dominion over the mighty. %%% Ne balyoka baserengeta ekitundu ky'abakungu n'eky'abantu ekyafikkawo; Mukama yanserengetera okulwana n'ab'amaanyi. 07JDG005.014 Out of Ephraim was there a root of them against Amalek; after thee, Benjamin, among thy people; out of Machir came down governors, and out of Zebulun they that handle the pen of the writer. %%% Mu Efulayimu ne muva abo abalina ekikolo kyabwe mu Amaleki; Nga bakugoberera ggwe, Benyamini, mu bika byo; Mu Makiri (ne muva) abafuga ne baserengeta, Ne mu Zebbulooni abo abakwata omuggo gw'oyo asimba ennyiriri. 07JDG005.015 And the princes of Issachar were with Deborah; even Issachar, and also Barak: he was sent on foot into the valley. For the divisions of Reuben there were great thoughts of heart. %%% N'abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; Nga Isakaali bwe yali, ne Balaki bwe yali bw'atyo; Baafubutuka mu kiwonvu (nga balinnya) mu bigere bye. Awali enzizi za Lewubeeni Waabaawo okuteesa kw'emitima okukulu. 07JDG005.016 Why abodest thou among the sheepfolds, to hear the bleatings of the flocks? For the divisions of Reuben there were great searchings of heart. %%% Kiki ekyakutuuza mu bisibo byo eby'endiga, Okuwulira endere ze bafuuyira ebisibo? Awali enzizi za Lewubeeni Waabaawo okuteesa kw'emitima okukulu. 07JDG005.017 Gilead abode beyond Jordan: and why did Dan remain in ships? Asher continued on the sea shore, and abode in his breaches. %%% Gireyaadi yabeera emitala wa Yoludaani: Ne Ddaani ekyamusigaza mu byombo kiki? Aseri n'atuula ng'asirika ku mwalo gw'ennyanja, N'abeera awali ebikono bye. 07JDG005.018 Zebulun and Naphtali were a people that jeoparded their lives unto the death in the high places of the field. %%% Zebbulooni be bantu abaagabula obulamu bwabwe okutuusa okufa, Ne Nafutaali, mu bifo ebigulumivu eby'olutalo. 07JDG005.019 The kings came and fought, then fought the kings of Canaan in Taanach by the waters of Megiddo; they took no gain of money. %%% Bakabaka bajja ne balwana; Awo nga lwe baalwana bakabaka ba Kanani, Mu Taanaki ku mazzi ga Megiddo: Tebaagoba magoba ga bintu. 07JDG005.020 They fought from heaven; the stars in their courses fought against Sisera. %%% Ab'omu ggulu baalwana, Emmunyeenye mu ŋŋendo zaazo zaalwana ne Sisera. 07JDG005.021 The river of Kishon swept them away, that ancient river, the river Kishon. O my soul, thou hast trodden down strength. %%% Omugga Kisoni gwabatwalira ddala, Omugga ogwo ogw'edda, omugga Kisoni. Ggwe obulamu bwange, tambula n'amaanyi: 07JDG005.022 Then were the horsehoofs broken by the means of the pransings, the pransings of their mighty ones. %%% Ebinuulo by'embalaasi ne biryoka bisambirira Olw'okubuuka, olw'okubuuka kw'ensolo zaabwe ez'amaanyi. 07JDG005.023 Curse ye Meroz, said the angel of the LORD, curse ye bitterly the inhabitants thereof; because they came not to the help of the LORD, to the help of the LORD against the mighty. %%% Mukolimire Merozi, bw'ayogera malayika wa Mukama, Mukolimire nnyo abaatuula omwo; Kubanga tebadduukirira Mukama, Tebadduukirira Mukama awali ab'amaanyi. 07JDG005.024 Blessed above women shall Jael the wife of Heber the Kenite be, blessed shall she be above women in the tent. %%% Aliba n'omukisa Yayeeri okusinga abakazi, Mukazi wa Keberi Omukeeni: Aliba n'omukisa okusinga abakazi mu weema: 07JDG005.025 He asked water, and she gave him milk; she brought forth butter in a lordly dish. %%% Yasaba amazzi, n'amuwa amata; N'amuleetera omuzigo mu kibya eky’ekikungu. 07JDG005.026 She put her hand to the nail, and her right hand to the workmen's hammer; and with the hammer she smote Sisera, she smote off his head, when she had pierced and stricken through his temples. %%% Yakwasa omukono enkondo, Yakwasa omukono gwe ogwa ddyo ennyondo ey'omukozi; N'akubya Sisera ennyondo, yakomerera omutwe, Weewaawo, yamufumita ekyenyi n’amuyisaamu. 07JDG005.027 At her feet he bowed, he fell, he lay down: at her feet he bowed, he fell: where he bowed, there he fell down dead. %%% Ku bigere bye n'akutama n’agwa n'agalamira: Ku bigere bye n'akutama n'agwa: We yakutamira we yagwira ddala ng'afudde. 07JDG005.028 The mother of Sisera looked out at a window, and cried through the lattice, Why is his chariot so long in coming? why tarry the wheels of his chariots? %%% Mu ddirisa yatunuulira n'ayogerera waggulu, Nnyina Sisera yayogerera waggulu mu ddirisa Nti Ekirwisizza eggaali lye okujja kiki? Ebisinde by'eggaali lye ekibirabiriza kiki? 07JDG005.029 Her wise ladies answered her, yea, she returned answer to herself, %%% Abakyala be ab'amagezi ne bamuddamu, Weewaawo, ne yeddamu yekka nti 07JDG005.030 Have they not sped? have they not divided the prey; to every man a damsel or two; to Sisera a prey of divers colours, a prey of divers colours of needlework, of divers colours of needlework on both sides, meet for the necks of them that take the spoil? %%% Tebalabye munyago, tebagugerese? Buli musajja omuwala, abawala babiri; Sisera omunyago ogw'amabala amangi, Omunyago ogw'amabala amangi amadalize, Amabala amangi amadalize eruuyi n'eruuyi, ku nsingo z'omunyago? 07JDG005.031 So let all thine enemies perish, O LORD: but let them that love him be as the sun when he goeth forth in his might. And the land had rest forty years. %%% Bwe batyo bazikirirenga abalabe bo bonna, ai Mukama: Naye abo bonna abamwagala babe ng'enjuba bw'evaayo mu maanyi gaayo. Ensi n'ewummulira emyaka amakumi ana. 07JDG006.001 And the children of Israel did evil in the sight of the LORD: and the LORD delivered them into the hand of Midian seven years. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi: Mukama n'abagabula mu mukono gwa Midiyaani emyaka musanvu. 07JDG006.002 And the hand of Midian prevailed against Israel: and because of the Midianites the children of Israel made them the dens which are in the mountains, and caves, and strong holds. %%% Omukono gwa Midiyaani ne guwangula Isiraeri: era olwa Midiyaani abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu obuli ku nsozi n'empuku n'ebigo. 07JDG006.003 And so it was, when Israel had sown, that the Midianites came up, and the Amalekites, and the children of the east, even they came up against them; %%% Awo olwatuuka Isiraeri bwe yamalanga okusiga, Abamidiyaani ne bayambukanga n'Abamaleki n'abaana ab'ebuvanjuba, nabo baabayambukirako; 07JDG006.004 And they encamped against them, and destroyed the increase of the earth, till thou come unto Gaza, and left no sustenance for Israel, neither sheep, nor ox, nor ass. %%% ne basiisira ewaabwe, ne bazikiriza ebibala by'ettaka, okutuusa bw'otuuka e Gaaza so tebaaleka kya kulya mu Isiraeri, newakubadde endiga, newakubadde ente, newakubadde endogoyi. 07JDG006.005 For they came up with their cattle and their tents, and they came as grasshoppers for multitude; for both they and their camels were without number: and they entered into the land to destroy it. %%% Kubanga baayambukira wamu n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, baayingiranga ng'enzige okuba abangi; bo era n'eŋŋamira zaabwe tebyabalikika ne bayingira mu nsi okugizikiriza. 07JDG006.006 And Israel was greatly impoverished because of the Midianites; and the children of Israel cried unto the LORD. %%% Isiraeri n'ajeezebwa nnyo olwa Midiyaani; abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama. 07JDG006.007 And it came to pass, when the children of Israel cried unto the LORD because of the Midianites, %%% Awo olwatuuka, abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama olwa Midiyaani, 07JDG006.008 That the LORD sent a prophet unto the children of Israel, which said unto them, Thus saith the LORD God of Israel, I brought you up from Egypt, and brought you forth out of the house of bondage; %%% Mukama n'atuma,nnabbi eri abaana ba Isiraeri: n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nabaggya mu Misiri ne mbalinnyisa, era nabaggya mu nnyumba y'obuddu; 07JDG006.009 And I delivered you out of the hand of the Egyptians, and out of the hand of all that oppressed you, and drave them out from before you, and gave you their land; %%% era nabawonya mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gw'abo bonna abaabajooga, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe; 07JDG006.010 And I said unto you, I am the LORD your God; fear not the gods of the Amorites, in whose land ye dwell: but ye have not obeyed my voice. %%% ne mbagamba nti Nze ndi Mukama Katonda wammwe; temutyanga bakatonda b'Abamoli, bemutuulira mu nsi yaabwe: naye temuwulidde ddoboozi lyange. 07JDG006.011 And there came an angel of the LORD, and sat under an oak which was in Ophrah, that pertained unto Joash the Abiezrite: and his son Gideon threshed wheat by the winepress, to hide it from the Midianites. %%% Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera, ogwali mu Ofula, kye kyali ekya Yowaasi Omwabiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali awuula eŋŋaano mu ssogolero agikise Abamidiyaani. 07JDG006.012 And the angel of the LORD appeared unto him, and said unto him, The LORD is with thee, thou mighty man of valour. %%% Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira. 07JDG006.013 And Gideon said unto him, Oh my Lord, if the LORD be with us, why then is all this befallen us? and where be all his miracles which our fathers told us of, saying, Did not the LORD bring us up from Egypt? but now the LORD hath forsaken us, and delivered us into the hands of the Midianites. %%% Gidyoni n'amugamba nti Ai mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale ekitubeesezzaako ebyo byonna kiki? era ebikolwa bye hyonna eby'ekitalo biri ludda wa bajjajjaffe bye baatubuulirako, nti Mukama teyatuggya mu Misiri? naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani. 07JDG006.014 And the LORD looked upon him, and said, Go in this thy might, and thou shalt save Israel from the hand of the Midianites: have not I sent thee? %%% Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani: si nze nkutumye? 07JDG006.015 And he said unto him, Oh my Lord, wherewith shall I save Israel? behold, my family is poor in Manasseh, and I am the least in my father's house. %%% N'amugamba nti Ai Mukama wange, Isiraeri ndimulokolera ku ki? laba, baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto mu nnyumba ya kitange. 07JDG006.016 And the LORD said unto him, Surely I will be with thee, and thou shalt smite the Midianites as one man. %%% Mukama n'amugamba nti Mazima ndibeera wamu naawe, era olikuba Abamidiyaani ng'omuntu omu. 07JDG006.017 And he said unto him, If now I have found grace in thy sight, then shew me a sign that thou talkest with me. %%% N'amugamba nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange. 07JDG006.018 Depart not hence, I pray thee, until I come unto thee, and bring forth my present, and set it before thee. And he said, I will tarry until thou come again. %%% Tova wano, nkwegayiridde, okutuusa lwe nnajja gy'oli, ne nfulumya ekirabo kyange, ne nkiteeka mu maaso go. N'ayogera nti Naabeera wano okutuusa lw'onookomawo. 07JDG006.019 And Gideon went in, and made ready a kid, and unleavened cakes of an ephah of flour: the flesh he put in a basket, and he put the broth in a pot, and brought it out unto him under the oak, and presented it. %%% Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta: ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'amazzi gaayo n'agafuka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa. 07JDG006.020 And the angel of God said unto him, Take the flesh and the unleavened cakes, and lay them upon this rock, and pour out the broth. And he did so. %%% Malayika wa Mukama n'amugamba ati Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, ofuke amazzi g'ennyama. N'akola bw'atyo. 07JDG006.021 Then the angel of the LORD put forth the end of the staff that was in his hand, and touched the flesh and the unleavened cakes; and there rose up fire out of the rock, and consumed the flesh and the unleavened cakes. Then the angel of the LORD departed out of his sight. %%% Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gulinnya, ne gumalawo ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa; malayika wa Mukama n'ava mu maaso ge. 07JDG006.022 And when Gideon perceived that he was an angel of the LORD, Gideon said, Alas, O LORD God! for because I have seen an angel of the LORD face to face. %%% Gidyoni n'alaba nga ye malayika wa Mukama; Gidyoni n’ayogera nti Zinsanze, ai Mukama Katonda, kubanga ndabaganye n'amaaso ne malayika wa Mukama. 07JDG006.023 And the LORD said unto him, Peace be unto thee; fear not: thou shalt not die. %%% Mukama n'amugamba nti Emirembe gibe gy'oli; totya: togenda kufa. 07JDG006.024 Then Gideon built an altar there unto the LORD, and called it Jehovahshalom: unto this day it is yet in Ophrah of the Abiezrites. %%% Gidyoni n'alyoka azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akiyita Yakuwasalumu: okutuusa leero kikyali mu Ofula eky'Ababiezeri. 07JDG006.025 And it came to pass the same night, that the LORD said unto him, Take thy father's young bullock, even the second bullock of seven years old, and throw down the altar of Baal that thy father hath, and cut down the grove that is by it: %%% Awo olwatuuka mu kiro ekyo Mukama n'amugamba nti Ddira ente ya kitaawo, ye nte ey'okubiri ey'akamaze emyaka omusanvu, osuule ekyoto kya Baali kitaawo ky'alina, otemeeteme ne Asera akiri okumpi: 07JDG006.026 And build an altar unto the LORD thy God upon the top of this rock, in the ordered place, and take the second bullock, and offer a burnt sacrifice with the wood of the grove which thou shalt cut down. %%% ozimbe ekyoto eri Mukama Katonda wo waggulu ku kigo kino, ng'empisa bwe yalagirwa, oddire ente eyo ey'okubiri, oweeyo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuti gwa Asera gw'onootemaatema. 07JDG006.027 Then Gideon took ten men of his servants, and did as the LORD had said unto him: and so it was, because he feared his father's household, and the men of the city, that he could not do it by day, that he did it by night. %%% Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde: awo olwatuuka, kubanga yali atidde ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ab'omu kibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akola ekiro. 07JDG006.028 And when the men of the city arose early in the morning, behold, the altar of Baal was cast down, and the grove was cut down that was by it, and the second bullock was offered upon the altar that was built. %%% Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo ey'okubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa. 07JDG006.029 And they said one to another, Who hath done this thing? And when they enquired and asked, they said, Gideon the son of Joash hath done this thing. %%% Ne bagambagana nti Ani akoze kino? Awo bwe baabuuza ne bakemereza, ne boogera nti Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye akoze kino. 07JDG006.030 Then the men of the city said unto Joash, Bring out thy son, that he may die: because he hath cast down the altar of Baal, and because he hath cut down the grove that was by it. %%% Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti Fulumya mutabani wo afe: kubanga amenyeemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi. 07JDG006.031 And Joash said unto all that stood against him, Will ye plead for Baal? will ye save him? he that will plead for him, let him be put to death whilst it is yet morning: if he be a god, let him plead for himself, because one hath cast down his altar. %%% Yowaasi n'agamba bonna abamuyimiridde mu maaso ge nti Mwagala okuwolereza Baali? oba mwagala okumulokola? ayagala okumuwolereza, bamutte nga (bukyali) bwa nkya: oba nga ye katonda, yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye. 07JDG006.032 Therefore on that day he called him Jerubbaal, saying, Let Baal plead against him, because he hath thrown down his altar. %%% Ku luaaku olwo kyeyava amuyita Yerubbbaali, ng'ayogera nti Baali amuwawaabire kubanga amenyeemenye ekyoto kye. 07JDG006.033 Then all the Midianites and the Amalekites and the children of the east were gathered together, and went over, and pitched in the valley of Jezreel. %%% Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abaana ab'ebuvanjuba ne bakuŋŋaana wamu; ne basomoka, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezureeri: 07JDG006.034 But the Spirit of the LORD came upon Gideon, and he blew a trumpet; and Abiezer was gathered after him. %%% Naye omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidyoni; n'afuuwa ekkondeere; Abiezeri n'akuŋŋaana wamu gy'ali. 07JDG006.035 And he sent messengers throughout all Manasseh; who also was gathered after him: and he sent messengers unto Asher, and unto Zebulun, and unto Naphtali; and they came up to meet them. %%% N'atuma ababaka okubuna Manase yenna; era nabo ne bakuŋŋaanira wamu gy'ali: n'atuma ababaka eri Aseri n'eri Zebbulooni n'eri Nafutaali; ne bayambuka okubasisinkana. 07JDG006.036 And Gideon said unto God, If thou wilt save Israel by mine hand, as thou hast said, %%% Gidyoni n'agamba Katonda nti Oba nga olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera, 07JDG006.037 Behold, I will put a fleece of wool in the floor; and if the dew be on the fleece only, and it be dry upon all the earth beside, then shall I know that thou wilt save Israel by mine hand, as thou hast said. %%% laba, naateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; oba ng'omusulo gunaaba ku byoya byokka, ettaka lyonna nga kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera. 07JDG006.038 And it was so: for he rose up early on the morrow, and thrust the fleece together, and wringed the dew out of the fleece, a bowl full of water. %%% Awo bwe kyali bwe kityo: kubanga n'agolokoka enkya mu makya; n'akamula ebyoya, omusulo n'agumalamu mu byoya, amazzi ne gajjula ekibya. 07JDG006.039 And Gideon said unto God, Let not thine anger be hot against me, and I will speak but this once: let me prove, I pray thee, but this once with the fleece; let it now be dry only upon the fleece, and upon all the ground let there be dew. %%% Gidyoni n'agamba Katonda nti Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, era naayogera omulundi guno gwokka: nkwegayiridde, nkeme n'ebyoya omulundi guno gwokka; kaakano ebyoya byokka bibeere bikalu, omusulo gube ku ttaka lyonna. 07JDG006.040 And God did so that night: for it was dry upon the fleece only, and there was dew on all the ground. %%% Katonda n'akola bw'atyo ekiro ekyo: kubanga ebyoya byokka bye byali ebikalu, omusulo ne guba ku ttaka lyonna. 07JDG007.001 Then Jerubbaal, who is Gideon, and all the people that were with him, rose up early, and pitched beside the well of Harod: so that the host of the Midianites were on the north side of them, by the hill of Moreh, in the valley. %%% Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali ku luuyi lwabwe olw'obuluika obwa kkono, ku mabbali g'olusozi Mole, mu kiwonvu. 07JDG007.002 And the LORD said unto Gideon, The people that are with thee are too many for me to give the Midianites into their hands, lest Israel vaunt themselves against me, saying, Mine own hand hath saved me. %%% Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu abali naawe bayinze obungi nze okuwa Abamidiyaani mu mukono gwabwe. Isiraeri aleme okunneenyumiririzaako ng'ayogera nti Omukono gwange nze gwe gundokodde. 07JDG007.003 Now therefore go to, proclaim in the ears of the people, saying, Whosoever is fearful and afraid, let him return and depart early from mount Gilead. And there returned of the people twenty and two thousand; and there remained ten thousand. %%% Ka1e nno kaakano genda olangire mu matu g'abantu nti Buli atya akankana, addeyo ave ku lusozi Gileyaadi. Ne waddayo ku bantu bukumi bubiri mu enkumi bbiri; ne wasigalawo kakumi. 07JDG007.004 And the LORD said unto Gideon, The people are yet too many; bring them down unto the water, and I will try them for thee there: and it shall be, that of whom I say unto thee, This shall go with thee, the same shall go with thee; and of whomsoever I say unto thee, This shall not go with thee, the same shall not go. %%% Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu bakyayinze obungi; baserengese ku mazzi; nange naabakukemerera eyo: awo olunaatuuka eyo gwe nnaakugamba nti Ono anaagenda naawe, ye anaagenda naawe; era buli gwe nnaakugamba nti Ono taagende naawe, ye ataagende naawe. 07JDG007.005 So he brought down the people unto the water: and the LORD said unto Gideon, Every one that lappeth of the water with his tongue, as a dog lappeth, him shalt thou set by himself; likewise every one that boweth down upon his knees to drink. %%% Awo n'aserengesa abantu ku mazzi: Mukama n'agamba Gidyoni nti Buli anaakomba ku mazzi n'olulimi, ng'embwa bw'ekomba, oyo gw'onooyawulamu; era bw'atyo buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa. 07JDG007.006 And the number of them that lapped, putting their hand to their mouth, were three hundred men: but all the rest of the people bowed down upon their knees to drink water. %%% N'omuwendo gw'abo abaakomba n'olulimi, nga batadde engalo ku mumwa, baali abasajja ebikumi bisatu: naye abantu abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi. 07JDG007.007 And the LORD said unto Gideon, By the three hundred men that lapped will I save you, and deliver the Midianites into thine hand: and let all the other people go every man unto his place. %%% Mukama n'agamba Gidyoni nti Nnaabalokola n'abasajja ebikumi bisatu abaakombye n'olulimi, ne ngabula Abamidiyaani mu mukono gwo: era abantu bonna beddireyo buli muntu mu kifo kye. 07JDG007.008 So the people took victuals in their hand, and their trumpets: and he sent all the rest of Israel every man unto his tent, and retained those three hundred men: and the host of Midian was beneath him in the valley. %%% Awo abantu ne batwala ebyokulya mu ngalo zaabwe, n'amakondeere: n'asindika abasajja bonna aba Isiraeri buli muntu mu weema ye; naye n'abeera n'abasajja abo ebikumi bisatu: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali wansi we mu kiwonvu: 07JDG007.009 And it came to pass the same night, that the LORD said unto him, Arise, get thee down unto the host; for I have delivered it into thine hand. %%% Awo olwatuuka ekiro ekyo Mukama n'amugamba nti Golokoka, oserengete mu lusiisira; kubanga ndugabudde mu mukono gwo. 07JDG007.010 But if thou fear to go down, go thou with Phurah thy servant down to the host: %%% Naye oba ng'otya okuserengeta; genda ne Pula omuddu wo oserengete mu lusiisira. 07JDG007.011 And thou shalt hear what they say; and afterward shall thine hands be strengthened to go down unto the host. Then went he down with Phurah his servant unto the outside of the armed men that were in the host. %%% era onoowulira bye boogera; emikono gyo ne giryoka giba n'amaanyi okuserengeta mu lusiisira: Awo n'aserengeta ne Pula omuddu we ne bayingira mu basajja abaalina ebyokulwanyisa abaali mu lusiisira ku nkomerero yaalwo. 07JDG007.012 And the Midianites and the Amalekites and all the children of the east lay along in the valley like grasshoppers for multitude; and their camels were without number, as the sand by the sea side for multitude. %%% N'Abamidiyaani n'Abamaleki n'abaana bonna ab'ebuvanjuba baali bateekeddwateekeddwa mu kiwonvu ng'enzige okuba abangi; n'eŋŋamira zaabwe tezaabalikika, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja okuba ennyingi. 07JDG007.013 And when Gideon was come, behold, there was a man that told a dream unto his fellow, and said, Behold, I dreamed a dream, and, lo, a cake of barley bread tumbled into the host of Midian, and came unto a tent, and smote it that it fell, and overturned it, that the tent lay along. %%% Awo Gidyoni bwe yatuuka, laba, nga waliwo omusajja abuulira munne ekirooto n'ayogera nti Laba, naloota ekirooto, era, laba, omugaati ogwa sayiri ne gugwa mu lusiisira lwa Midiyaani, ne guyingira mu weema, ne gugikuba n'egwa, ne gugivuunika, eweema n'egalamira bugalamizi. 07JDG007.014 And his fellow answered and said, This is nothing else save the sword of Gideon the son of Joash, a man of Israel: for into his hand hath God delivered Midian, and all the host. %%% Munne n'addamu n'ayogera nti Ekyo kitala kya Gidyoni mutabani wa Yowaasi omusajja wa Isiraeri so si kirala mu mukono gw'oyo Katonda mw'agabudde Midiyaani n'eggye lyonna. 07JDG007.015 And it was so, when Gideon heard the telling of the dream, and the interpretation thereof, that he worshipped, and returned into the host of Israel, and said, Arise; for the LORD hath delivered into your hand the host of Midian. %%% Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamuwulira ng'abuulira ekirooto n'okutegeeza kwakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti Mugolokoke, kubanga Mukama agabudde mu mukono gwammwe eggye lya Midiyaani. 07JDG007.016 And he divided the three hundred men into three companies, and he put a trumpet in every man's hand, with empty pitchers, and lamps within the pitchers. %%% N'ayawulamu abasajja bali ebikumi bisatu n'abafuula ebisinde bisatu, n'abakwasa bonna amakondeere mu ngalo zaabwe, n'ensuwa enkalu, ebitawuliro nga biri mu nsuwa. 07JDG007.017 And he said unto them, Look on me, and do likewise: and, behold, when I come to the outside of the camp, it shall be that, as I do, so shall ye do. %%% N'abagamba nti Mulabire ku nze; nammwe mukole bwe mutyo: era, laba, bwe nnaatuuka ku nkomerero y'olusiisira, awo nze nga bwe nnaakola, nammwe munaakola bwe mutyo. 07JDG007.018 When I blow with a trumpet, I and all that are with me, then blow ye the trumpets also on every side of all the camp, and say, The sword of the LORD, and of Gideon. %%% Nze bwe nnaafuuwa ekkondeere, nze ne bonna abali nange, nammwe ne mulyoka mufuuwa amakondeere ku njuuyi zonna ez'olusiisiira lwonna, ne mwogera nti Ba Mukama era ba Gidyoni. 07JDG007.019 So Gideon, and the hundred men that were with him, came unto the outside of the camp in the beginning of the middle watch; and they had but newly set the watch: and they blew the trumpets, and brake the pitchers that were in their hands. %%% Awo Gidyoni n'abasajja kikumi abaali naye ne batuuka ku nkomerero y'olusiisira ekisisimuka ekya wakati nga kyekijje kitanule nga kyebajje basseewo abakuumi ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa, ezaali mu ngalo zaabwe. 07JDG007.020 And the three companies blew the trumpets, and brake the pitchers, and held the lamps in their left hands, and the trumpets in their right hands to blow withal: and they cried, The sword of the LORD, and of Gideon. %%% Ebibiina ebisatu ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa nga bakutte ebitawuliro n'emikono gyabwe egya kkono, n'amakondeere n'emikono gyabwe egya ddyo bafuuwe: ne boogerera waggulu nti Ekitala kya Mukama era kya Gidyoni. 07JDG007.021 And they stood every man in his place round about the camp; and all the host ran, and cried, and fled. %%% Ne bayimirira buli muntu mu kifo kye nga beetooloola olusiisira: eggye lyonna ne lidduka; ne boogerera waggulu, ne babaddusa. 07JDG007.022 And the three hundred blew the trumpets, and the LORD set every man's sword against his fellow, even throughout all the host: and the host fled to Bethshittah in Zererath, and to the border of Abelmeholah, unto Tabbath. %%% Ne bafuuwa amakondeere ebikumi bisatu, Mukama n'alwanyisa buli muntu ekitala kye okufumita munne era n'eggye lyonna: eggye ne lidduka okutuuka ku Besusitta mu kkubo 1y'e Zerera, okutuuka ku nsalo ya Aberumekola ku mabbali g'e Tabbasi. 07JDG007.023 And the men of Israel gathered themselves together out of Naphtali, and out of Asher, and out of all Manasseh, and pursued after the Midianites. %%% Abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaanyizibwa okuva mu Nafutaali ne mu Aseri ne mu Manase yonna, ne bagoberera Midiyaani, 07JDG007.024 And Gideon sent messengers throughout all mount Ephraim, saying, Come down against the Midianites, and take before them the waters unto Bethbarah and Jordan. Then all the men of Ephraim gathered themselves together, and took the waters unto Bethbarah and Jordan. %%% Gidyoni n'atuma ababaka okubuna ensi yonna eya Efulayimu ey'ensozi nga boogera nti Mujje muserengete ku Midiyaani, mubasooke okwekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani: Awo abasajja bonna aba Efulayimu ne bakuŋŋaanyizibwa, ne beekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani. 07JDG007.025 And they took two princes of the Midianites, Oreb and Zeeb; and they slew Oreb upon the rock Oreb, and Zeeb they slew at the winepress of Zeeb, and pursued Midian, and brought the heads of Oreb and Zeeb to Gideon on the other side Jordan. %%% Ne bakwata abalangira ba Midiyaani bombi, Olebu ne Zeebu; ne battira Olebu ku jjinja lya Olebu, ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero lya Zeebu, ne bagoberera Midiyaani: ne baleetera Gidyoni emitwe gya Olebu ne Zeebu emitala wa Yoludaani. 07JDG008.001 And the men of Ephraim said unto him, Why hast thou served us thus, that thou calledst us not, when thou wentest to fight with the Midianites? And they did chide with him sharply. %%% Abasajja ba Efulayimu ne bamugamba nti Kiki ekikukozezza ffe bw'otyo, obutatuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani? Ne bayomba nnyo naye. 07JDG008.002 And he said unto them, What have I done now in comparison of you? Is not the gleaning of the grapes of Ephraim better than the vintage of Abiezer? %%% N'abagamba nti Nze kye nkoze kaakano kiki okukyenkanyankanya nammwe? Ezabbibu Efulayimu z'akungudde ng'addamu tezisinga ezo obungi Abiyezeeri z'akungudde? 07JDG008.003 God hath delivered into your hands the princes of Midian, Oreb and Zeeb: and what was I able to do in comparison of you? Then their anger was abated toward him, when he had said that. %%% Katonda agabudde mu mukono gwammwe abalangira ba Midiyaani, Olebu ne Zeebu: era nze nandiyinzizza kukola ki okukyenkanyankaaya nammwe? Awo obusungu bwabwe ne bulyoka bukkakkana gy'ali, bwe yamala okwogera bw'atyo. 07JDG008.004 And Gideon came to Jordan, and passed over, he, and the three hundred men that were with him, faint, yet pursuing them. %%% Gidyoni n'atuuka ku Yoludaani, n'asomoka, ye n'abasajja ebikumi bisatu abaali naye, nga bakooye, naye nga bakyagoberera. 07JDG008.005 And he said unto the men of Succoth, Give, I pray you, loaves of bread unto the people that follow me; for they be faint, and I am pursuing after Zebah and Zalmunna, kings of Midian. %%% N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti Mbeegayiridde, bawe emigaati abantu abangoberera;kubanga bakooye, era ngoberera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani. 07JDG008.006 And the princes of Succoth said, Are the hands of Zebah and Zalmunna now in thine hand, that we should give bread unto thine army? %%% Abalangira b'e Sukkosi ne boogera nti Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe okuwa eggye lyo emigaati? 07JDG008.007 And Gideon said, Therefore when the LORD hath delivered Zebah and Zalmunna into mine hand, then I will tear your flesh with the thorns of the wilderness and with briers. %%% Gidyoni n’ayogera nti Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka nsika omubiri gwammwe n'amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo. 07JDG008.008 And he went up thence to Penuel, and spake unto them likewise: and the men of Penuel answered him as the men of Succoth had answered him. %%% N'avaayo n'ayambuka e Penueri, n'abagamba bw'atyo:abasajja ab'omu Penueri ne bamuddamu ng'abasajja ab'omu Sukkosi bwe baddamu. 07JDG008.009 And he spake also unto the men of Penuel, saying, When I come again in peace, I will break down this tower. %%% N'agamba abasajja ab'omu Penueri nabo nti Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyamenya ekigo kino. 07JDG008.010 Now Zebah and Zalmunna were in Karkor, and their hosts with them, about fifteen thousand men, all that were left of all the hosts of the children of the east: for there fell an hundred and twenty thousand men that drew sword. %%% Era Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe awamu nabo, abasajja nga kakumi mu enkumi ttaano, bonna abaafikkawo ku ggye lyonna ery'abaana b'ebuvanjuba: kubanga abasajja abaasowolanga ebitala baali bafudde kasiriivu mu obukumi bubiri. 07JDG008.011 And Gideon went up by the way of them that dwelt in tents on the east of Nobah and Jogbehah, and smote the host: for the host was secure. %%% Gidyoni n'ayambukira mu kkubo lyabo abatuula mu weema ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Noba n'e Yogubeka, n'akuba eggye: kubanga eggye lyali terimanyiridde. 07JDG008.012 And when Zebah and Zalmunna fled, he pursued after them, and took the two kings of Midian, Zebah and Zalmunna, and discomfited all the host. %%% Zeba ne Zalumunna ne badduka; n'abagoberera; n'akwata bakabaka ba Midiyaani bombi, Zeba ne Zalumunna, n'atiisa eggye lyonna. 07JDG008.013 And Gideon the son of Joash returned from battle before the sun was up, %%% Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'akomawo mu ntalo awayambukirwa mu Keresi. 07JDG008.014 And caught a young man of the men of Succoth, and enquired of him: and he described unto him the princes of Succoth, and the elders thereof, even threescore and seventeen men. %%% N'akwata omuvubuka ku basajja ab'omu Sukkosi, n'amubuuliriza: n'amutegeeza abalangira b'e Sukkosi bwe baafaanana n'abakadde baayo, abasajja nsanvu mu musanvu. 07JDG008.015 And he came unto the men of Succoth, and said, Behold Zebah and Zalmunna, with whom ye did upbraid me, saying, Are the hands of Zebah and Zalmunna now in thine hand, that we should give bread unto thy men that are weary? %%% N'ajja eri abasajja ab'omu Sukkosi, n'ayogera nti Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe okubawa emigaati abasajja bo abakooye? 07JDG008.016 And he took the elders of the city, and thorns of the wilderness and briers, and with them he taught the men of Succoth. %%% N'atwala abakadde ab'ekibuga, n'addira amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo, n'ayigiriza nabyo abasajja ab'omu Sukkosi. 07JDG008.017 And he beat down the tower of Penuel, and slew the men of the city. %%% N'amenyamenya ekigo eky'e Penueri, n'atta abasajja ab'omu kibuga. 07JDG008.018 Then said he unto Zebah and Zalmunna, What manner of men were they whom ye slew at Tabor? And they answered, As thou art, so were they; each one resembled the children of a king. %%% Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya? Ne baddamu nti Ggwe nga bw'oli nabo bwe baali; buli omu yafaanana abaana ba kabaka. 07JDG008.019 And he said, They were my brethren, even the sons of my mother: as the LORD liveth, if ye had saved them alive, I would not slay you. %%% N'ayogera nti Baali baganda bange, abaana ba mmange: nga Mukama bw'ali omulamu, singa mwabawonya okufa, sandibasse mmwe. 07JDG008.020 And he said unto Jether his firstborn, Up, and slay them. But the youth drew not his sword: for he feared, because he was yet a youth. %%% N'agamba Yeseri omubereberye we nti Golokoka obatte. Naye omuvubuka oyo n'atasowola kitala kye: kubanga yatya, kubanga yali akyali muvubuka. 07JDG008.021 Then Zebah and Zalmunna said, Rise thou, and fall upon us: for as the man is, so is his strength. And Gideon arose, and slew Zebah and Zalmunna, and took away the ornaments that were on their camels' necks. %%% Zeba ne Zalumunna ne balyoka boogera nti Golokoka ggwe otugweko: kubanga omusajja nga bw'ali, n'amaanyi ge bwe gali bwe gatyo Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala emyezi egyali ku nsingo z'eŋŋamira zaabwe. 07JDG008.022 Then the men of Israel said unto Gideon, Rule thou over us, both thou, and thy son, and thy son's son also: for thou hast delivered us from the hand of Midian. %%% Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti Tufuge ggwe ne mutabani wo era n'omwana wa mutabani wo: kubanga otulokodde mu mukono gwa Midiyaani. 07JDG008.023 And Gideon said unto them, I will not rule over you, neither shall my son rule over you: the LORD shall rule over you. %%% Gidyoni n'abagamba nti Nze sigenda kubafuga, so ne mutabani wange tagenda kubafuga: Mukama y'anaabafuganga. 07JDG008.024 And Gideon said unto them, I would desire a request of you, that ye would give me every man the earrings of his prey. (For they had golden earrings, because they were Ishmaelites.) %%% Gidyoni n'abagamba nti Mbadde njagala okubasaba, mumpe buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga. (Kubanga baali balina empeta ez'omu matu eza zaabu, kubanga Baisimaeri.) 07JDG008.025 And they answered, We will willingly give them. And they spread a garment, and did cast therein every man the earrings of his prey. %%% Ne baddamu nti Tunaaziwa, si lwa mpaka. Ne baaliirawo ekyambalo, ne basuulako buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga. 07JDG008.026 And the weight of the golden earrings that he requested was a thousand and seven hundred shekels of gold; beside ornaments, and collars, and purple raiment that was on the kings of Midian, and beside the chains that were about their camels' necks. %%% N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu; obutassaako myezi, na byakulengejja, na byambalo bya fulungu bakabaka ba Midiyaani bye baali bambadde, era obutassaako mikuufu egyali mu nsingo z'eŋŋamira zaabwe. 07JDG008.027 And Gideon made an ephod thereof, and put it in his city, even in Ophrah: and all Israel went thither a whoring after it: which thing became a snare unto Gideon, and to his house. %%% Gidyoni n'abikoza ekkanzu, n'agiteeka mu kibuga kye, mu Ofula: ne Isiraeri yenna ne bagenda ne bagigoberera eyo okwenda nayo: n'efuuka kyambika eri Gidyoni n'eri ennyumba ye. 07JDG008.028 Thus was Midian subdued before the children of Israel, so that they lifted up their heads no more. And the country was in quietness forty years in the days of Gideon. %%% Awo Midiyaani n'ajeemulwa abaana ba Isiraeri, so tebaayimusa nate mitwe gyabwe. Ensi n'ewummulira emyaka ana mu mirembe gya Gidyoni. 07JDG008.029 And Jerubbaal the son of Joash went and dwelt in his own house. %%% Yerubbaali mutabani wa Yowaasi n'agenda n'abeera mu nnyumba ye ye. 07JDG008.030 And Gideon had threescore and ten sons of his body begotten: for he had many wives. %%% Era Gidyoni yalina batabani be be yazaala abaava mu ntumbwe ze nsanvu: kubanga yawasa abakazi bangi. 07JDG008.031 And his concubine that was in Shechem, she also bare him a son, whose name he called Abimelech. %%% N'omuzaana we eyali Sekemu naye yamuzaalira omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Abimereki. 07JDG008.032 And Gideon the son of Joash died in a good old age, and was buried in the sepulchre of Joash his father, in Ophrah of the Abiezrites. %%% Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'amaze okukaddiwa obulungi, ne bamuziika, mu ntaana ya Yowaasi kitaawe, mu Ofula eky'Ababiezeri. 07JDG008.033 And it came to pass, as soon as Gideon was dead, that the children of Israel turned again, and went a whoring after Baalim, and made Baalberith their god. %%% Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne bakyuka nate, ne bagenda bayenda okugoberera Babaali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe. 07JDG008.034 And the children of Israel remembered not the LORD their God, who had delivered them out of the hands of all their enemies on every side: %%% Abaana ba Isiraeri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe, eyabawonya mu mukono gw'abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna: 07JDG008.035 Neither shewed they kindness to the house of Jerubbaal, namely, Gideon, according to all the goodness which he had shewed unto Israel. %%% so tebaakola bya kisa nnyumba ya Yerubbaali, ye Gidyoni, ng'obulungi bwonna bwe bwali bwe yakola eri Isiraeri. 07JDG009.001 And Abimelech the son of Jerubbaal went to Shechem unto his mother's brethren, and communed with them, and with all the family of the house of his mother's father, saying, %%% Abimereki mutabani wa Yerubbaali n'agenda e Sekemu eri baganda ba nnyina n'ayogera nabo n'ab'oluganda bonna ab'ennyumba ya kitaawe wa nnyina nti 07JDG009.002 Speak, I pray you, in the ears of all the men of Shechem, Whether is better for you, either that all the sons of Jerubbaal, which are threescore and ten persons, reign over you, or that one reign over you? remember also that I am your bone and your flesh. %%% Mbeegayiridde, mwogerere mu matu g'abasajja bonna ab'e Sekemu nti Ekisinga obulungi gye muli kiruwa batabani ba Yerubbaali bonna, be bantu ensanvu, okubafuganga, nantiki omu okubafuganga? era mujjukire nga nze ndi wa ku magumba gammwe n'omubiri gwammwe. 07JDG009.003 And his mother's brethren spake of him in the ears of all the men of Shechem all these words: and their hearts inclined to follow Abimelech; for they said, He is our brother. %%% Awo baganda ba nnyina ne bamwogerera ebigambo ebyo byonna mu matu g'abasajja ab'e Sekemu: emitima gyabwe ne gyagala okugoberera Abimereki; kubanga baagamba nti Ye muganda waffe. 07JDG009.004 And they gave him threescore and ten pieces of silver out of the house of Baalberith, wherewith Abimelech hired vain and light persons, which followed him. %%% Ne bamuwa (ebitundu) ebya ffeeza nsanvu bye baggya mu nnyumba ya Baaluberisi. Abimereki n'abiweera abasajja abataliiko kye bagasa abatali banywevu, ne bamugobereranga. 07JDG009.005 And he went unto his father's house at Ophrah, and slew his brethren the sons of Jerubbaal, being threescore and ten persons, upon one stone: notwithstanding yet Jotham the youngest son of Jerubbaal was left; for he hid himself. %%% N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be batabani ba Yerubbaali, be bantu ensanvu, ku jjinja limu: naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'afikkawo; kubanga yeekweka. 07JDG009.006 And all the men of Shechem gathered together, and all the house of Millo, and went, and made Abimelech king, by the plain of the pillar that was in Shechem. %%% N'abasajja bonna ab'omu Sekemu ne bakuŋŋaana n'ennyumba yonna eya Mmiiro, ne bagenda ne bafuula Abimereki kabaka, awali omwera oguliraanye empagi eyali mu Sekemu. 07JDG009.007 And when they told it to Jotham, he went and stood in the top of mount Gerizim, and lifted up his voice, and cried, and said unto them, Hearken unto me, ye men of Shechem, that God may hearken unto you. %%% Awo bwe baakibuulira Yosamu, n'agenda n'ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'ayimusa eddoboozi lye, n'ayogerera waggulu, n'abagamba nti Mumpulire, mmwe abasajja ab'omu Sekemu, Katonda alyoke abawulire mmwe. 07JDG009.008 The trees went forth on a time to anoint a king over them; and they said unto the olive tree, Reign thou over us. %%% Olwatuuka emiti ne gifuluma okufuka amafuta ku kabaka anaagifuganga; ne gigamba omuzeyituuni nti Tufuge ggwe. 07JDG009.009 But the olive tree said unto them, Should I leave my fatness, wherewith by me they honour God and man, and go to be promoted over the trees? %%% Naye omuzeyituuni ne gugigamba nti Nandirese obugimu bwange mwe bayima okussaamu ekitiibwa Katonda n'abantu ku bwange, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti? 07JDG009.010 And the trees said to the fig tree, Come thou, and reign over us. %%% Emiti ne gigamba omutiini nti Jjangu ggwe otufuge, 07JDG009.011 But the fig tree said unto them, Should I forsake my sweetness, and my good fruit, and go to be promoted over the trees? %%% Naye omutiini ne gugigamba nti Nandirese obuwoomerevu bwange n'ebibala byange ebirungi, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti? 07JDG009.012 Then said the trees unto the vine, Come thou, and reign over us. %%% Emiti ne gigamba omuzabbibu nti Jjangu ggwe otufuge. 07JDG009.013 And the vine said unto them, Should I leave my wine, which cheereth God and man, and go to be promoted over the trees? %%% Omuzabbibu ne gugigamba nti Nandirese omwenge gwange, ogusanyusa Katonda n’abantu, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti? 07JDG009.014 Then said all the trees unto the bramble, Come thou, and reign over us. %%% Awo emiti gyonna ne giryoka gigamba omweramannyo nti Jjangu ggwe otufuge. 07JDG009.015 And the bramble said unto the trees, If in truth ye anoint me king over you, then come and put your trust in my shadow: and if not, let fire come out of the bramble, and devour the cedars of Lebanon. %%% Omweramannyo ne gugamba emiti nti Oba nga munfukako amafuta okuba kabaka mazima ddala, kale mujje mwesige ekisiikirize kyange: naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu mweramannyo gumalewo emivule egy'oku Lebanooni. 07JDG009.016 Now therefore, if ye have done truly and sincerely, in that ye have made Abimelech king, and if ye have dealt well with Jerubbaal and his house, and have done unto him according to the deserving of his hands; %%% Kale nno, oba nga mwakola eby'amazima n'eby'obutuukirivu, okufuula Abimereki kabaka, era oba nga mwakola bulungi Yerubbaali n'ennyumba ye, ne mumukola ng'emikono gye bwe gyasaanira (okumukola); 07JDG009.017 (For my father fought for you, and adventured his life far, and delivered you out of the hand of Midian: %%% (kubanga kitange yabalwanirira, n'asingawo obulamu bwe, n'abawonya mu mukono gwa Midiyaani: 07JDG009.018 And ye are risen up against my father's house this day, and have slain his sons, threescore and ten persons, upon one stone, and have made Abimelech, the son of his maidservant, king over the men of Shechem, because he is your brother;) %%% nammwe mugolokose leero ku nnyumba ya kitange, era mwattira batabani be, abantu nsanvu, ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abasajja ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe;) 07JDG009.019 If ye then have dealt truly and sincerely with Jerubbaal and with his house this day, then rejoice ye in Abimelech, and let him also rejoice in you: %%% kale oba nga mumukoze leero eby'amazima n'eby'obutuukirivu Yerubbaali n'ennyumba ye, kale musanyukire Abimereki, era naye abasanyukire mmwe: 07JDG009.020 But if not, let fire come out from Abimelech, and devour the men of Shechem, and the house of Millo; and let fire come out from the men of Shechem, and from the house of Millo, and devour Abimelech. %%% naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu Abimereki, gumalewo abasajja ab'omu Sekemu n'ennyumba ya Mmiiro, era omuliro guve mu basajja ab'omu Sekemu ne mu nnyumba ya Mmiiro gumalewo Abimereki. 07JDG009.021 And Jotham ran away, and fled, and went to Beer, and dwelt there, for fear of Abimelech his brother. %%% Yosamu n'agenda mbiro n'adduka, n'atuuka e Beseri, n'abeera eyo, olw'okutya Abimereki muganda we. 07JDG009.022 When Abimelech had reigned three years over Israel, %%% Abimereki n'amala emyaka esatu nga ye mukulu wa Isiraeri. 07JDG009.023 Then God sent an evil spirit between Abimelech and the men of Shechem; and the men of Shechem dealt treacherously with Abimelech: %%% Katonda n’atuma omuzimu omubi okwawukanya Abimereki n'abasajja ab'omu Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne basalira Abimereki enkwe: 07JDG009.024 That the cruelty done to the threescore and ten sons of Jerubbaal might come, and their blood be laid upon Abimelech their brother, which slew them; and upon the men of Shechem, which aided him in the killing of his brethren. %%% ekyejo kye baakolera batabani ba Yerubbaali ensanvu kiryoke kijje, n'omusaayi gwabwe guteekebwe ku Abimereki muganda waabwe, eyabatta, ne ku basajja ab'omu Sekemu, abaawa emikono gye amaanyi okutta baganda be. 07JDG009.025 And the men of Shechem set liers in wait for him in the top of the mountains, and they robbed all that came along that way by them: and it was told Abimelech. %%% Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali: ne babuulira Abimereki. 07JDG009.026 And Gaal the son of Ebed came with his brethren, and went over to Shechem: and the men of Shechem put their confidence in him. %%% Awo Gaali mutabani wa Ebedi n'ajja ne baganda be, n'agenda e Sekemu: abasajja ab'omu Sekemu ne bamwesiga. 07JDG009.027 And they went out into the fields, and gathered their vineyards, and trode the grapes, and made merry, and went into the house of their god, and did eat and drink, and cursed Abimelech. %%% Ne bafuluma mu nnimiro, ne bafumba embaga, ne bayingira mu nnyumba ya lubaale waabwe, ne balya ne banywa, ne bakolimira Abimereki. 07JDG009.028 And Gaal the son of Ebed said, Who is Abimelech, and who is Shechem, that we should serve him? is not he the son of Jerubbaal? and Zebul his officer? serve the men of Hamor the father of Shechem: for why should we serve him? %%% Gaali mutabani wa Ebedi n'ayogera nti Abimereki ye ani, ne Sekemu ye ani, ffe okumuweereza? si ye mutabani wa Yerubbaali? ne Zebbuli omumyuka we (ye ani)? muweereze abasajja ba Kamoli kitaawe wa Sekemu: naye ffe kiki ekyandituweerezesezza oyo? 07JDG009.029 And would to God this people were under my hand! then would I remove Abimelech. And he said to Abimelech, Increase thine army, and come out. %%% Era singa abantu bano baali wansi w'omukono gwange! nandiggyeewo Abimereki. N'agamba Abimereki nti Yongera eggye lyo ofulume. 07JDG009.030 And when Zebul the ruler of the city heard the words of Gaal the son of Ebed, his anger was kindled. %%% Awo Zebbuli omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, obusungu bwe ne bubuubuuka. 07JDG009.031 And he sent messengers unto Abimelech privily, saying, Behold, Gaal the son of Ebed and his brethren be come to Shechem; and, behold, they fortify the city against thee. %%% N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be batuuse mu Sekemu; era, laba, bawaliriza ekibuga okukulwanyisa. 07JDG009.032 Now therefore up by night, thou and the people that is with thee, and lie in wait in the field: %%% Kale nno, golokoka kiro, ggwe n'abantu abali naawe, muteegere mu nnimiro: 07JDG009.033 And it shall be, that in the morning, as soon as the sun is up, thou shalt rise early, and set upon the city: and, behold, when he and the people that is with him come out against thee, then mayest thou do to them as thou shalt find occasion. %%% awo olulituuka mu makya enjuba nga kyejje eveeyo, oligolokoka mu makya n'olumba ekibuga: era, laba, ye n'abantu abali naye bwe balifuluma okulwana naawe, oliyinza okubakola nga bw'oliraba ebbanga. 07JDG009.034 And Abimelech rose up, and all the people that were with him, by night, and they laid wait against Shechem in four companies. %%% Abimereki n'agolokoka, n'abantu bonna abaali naye, kiro, ne bateega Sekemu nga beeyawuddemu ebisinde bina. 07JDG009.035 And Gaal the son of Ebed went out, and stood in the entering of the gate of the city: and Abimelech rose up, and the people that were with him, from lying in wait. %%% Gaali mutabani wa Ebedi n'afuluma, n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga: Abimereki n'agolokoka n'abantu abaali naye we baali bateegedde. 07JDG009.036 And when Gaal saw the people, he said to Zebul, Behold, there come people down from the top of the mountains. And Zebul said unto him, Thou seest the shadow of the mountains as if they were men. %%% Awo Gaali bwe yalaba abantu, n’agamba Zebbuli nti Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi: Zebbuli n'amugamba nti Olaba ekisiikirize ky'ensozi nga kifaanana ng'abantu. 07JDG009.037 And Gaal spake again and said, See there come people down by the middle of the land, and another company come along by the plain of Meonenim. %%% Gaali n'ayogera nate n'agamba nti Laba, waliwo abafuluma (mu kkubo eriri) wakati mu nsi, n'ekibiina ekimu kifuluma mu kkubo ery'omwera ogw'abafumu. 07JDG009.038 Then said Zebul unto him, Where is now thy mouth, wherewith thou saidst, Who is Abimelech, that we should serve him? is not this the people that thou hast despised? go out, I pray now, and fight with them. %%% Awo Zebbuli n'alyoka amugamba nti Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wayogera nti Abimereki ye ani, ffe okumuweereza? bano si be bantu be wanyooma? kaakano, nkwegayiridde, fuluma olwane nabo. 07JDG009.039 And Gaal went out before the men of Shechem, and fought with Abimelech. %%% Gaali n'akulembera abasajja ab'omu Sekemu n'afuluma, n'alwana ne Abimereki. 07JDG009.040 And Abimelech chased him, and he fled before him, and many were overthrown and wounded, even unto the entering of the gate. %%% Abimereki n'amugoba, n'adduka mu maaso ge, ne bagwa bangi nga bafumitiddwa, okutuusa mu mulyango gwa wankaaki. 07JDG009.041 And Abimelech dwelt at Arumah: and Zebul thrust out Gaal and his brethren, that they should not dwell in Shechem. %%% Abimereki n'abeera mu Aluma: Zebbuli n'agobamu Gaali ne baganda be, baleme okubeera mu Sekemu. 07JDG009.042 And it came to pass on the morrow, that the people went out into the field; and they told Abimelech. %%% Awo olwatuuka enkya abantu ne bafuluma mu nnimiro; ne babuulira Abimereki. 07JDG009.043 And he took the people, and divided them into three companies, and laid wait in the field, and looked, and, behold, the people were come forth out of the city; and he rose up against them, and smote them. %%% Awo n'atwala abantu n'abaawulamu ebisinde bisatu, n'ateegera mu nnimiro: n'atunula, era, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga; n'abagolokokerako, n'abakuba: 07JDG009.044 And Abimelech, and the company that was with him, rushed forward, and stood in the entering of the gate of the city: and the two other companies ran upon all the people that were in the fields, and slew them. %%% Abimereki n'ebisinde ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga: ebisinde ebibiri ne bafubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba. 07JDG009.045 And Abimelech fought against the city all that day; and he took the city, and slew the people that was therein, and beat down the city, and sowed it with salt. %%% Abimereki n'azibya obudde ku lunaku olwo ng'alwana n'ekibuga; ekibuga n'akikuba, n'atta abantu abaali omwo: n'amenyamenya ekibuga, n'akisiga omunnyo. 07JDG009.046 And when all the men of the tower of Shechem heard that, they entered into an hold of the house of the god Berith. %%% Abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo ne bayingira mu kinnya eky'omu nnyumba ya Eruberisi. 07JDG009.047 And it was told Abimelech, that all the men of the tower of Shechem were gathered together. %%% Ne babuulira Abimereki ng'abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bakuŋŋaanye. 07JDG009.048 And Abimelech gat him up to mount Zalmon, he and all the people that were with him; and Abimelech took an axe in his hand, and cut down a bough from the trees, and took it, and laid it on his shoulder, and said unto the people that were with him, What ye have seen me do, make haste, and do as I have done. %%% Awo Abimeieki n'alinnya ku lusozi Zalumoni, ye n'abantu bonna abaali naye; Abimereki n'addira embazzi mu ngalo ze, n'atema ettabi ku miti, n'alironda, n'aliteeka ku kibegabega kye: n'agamba abantu abaali naye nti Kye mulabye nga nze nkikoze, mwanguwe mukole nga bwe nkoze 07JDG009.049 And all the people likewise cut down every man his bough, and followed Abimelech, and put them to the hold, and set the hold on fire upon them; so that all the men of the tower of Shechem died also, about a thousand men and women. %%% Abantu bonna nabo bwe batyo ne batema buli muntu ettabi lye, ne bagoberera Abimereki, ne bagassa ku kinnya kiri, ne bookya ekinnya nago; n'okufa ne bafa abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu nabo, abasajja n'abakazi nga lukumi. 07JDG009.050 Then went Abimelech to Thebez, and encamped against Thebez, and took it. %%% Awo Abimereki n'agenda e Sebezi, n'asiisira olusiisira ku Sebezi, n'akimenya. 07JDG009.051 But there was a strong tower within the city, and thither fled all the men and women, and all they of the city, and shut it to them, and gat them up to the top of the tower. %%% Naye mu kibuga mwalimu ekigo eky'amaanyi, omwo mwe baddukira abasajja bonna n'abakazi, ne bonna ab'ekibuga, ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo. 07JDG009.052 And Abimelech came unto the tower, and fought against it, and went hard unto the door of the tower to burn it with fire. %%% Abimereki n'ajja eri ekigo, n'alwana nakyo, n'asemberera oluggi lw'ekigo okulwokya n'omuliro. 07JDG009.053 And a certain woman cast a piece of a millstone upon Abimelech's head, and all to brake his skull. %%% N'omukazi omu n'akasuka olnbengo ku mutwe gwa Abimereki, n'amwasa omutwe. 07JDG009.054 Then he called hastily unto the young man his armourbearer, and said unto him, Draw thy sword, and slay me, that men say not of me, A woman slew him. And his young man thrust him through, and he died. %%% Awo n'ayanguwa okuyita omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, n'amugamba nti Sowola ekitala kyo, onzite, abantu balemenga okunjogerako nti Omukazi ye yamutta. Omulenzi we n'amufumita, n'afa. 07JDG009.055 And when the men of Israel saw that Abimelech was dead, they departed every man unto his place. %%% Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga Abimereki afudde, ne baddayo buli muntu mu kifo kye. 07JDG009.056 Thus God rendered the wickedness of Abimelech, which he did unto his father, in slaying his seventy brethren: %%% Katonda bwe yawalana bw'atyo obubi bwa Abimereki, bwe yakola kitaawe, kubanga yatta baganda be nsanvu: 07JDG009.057 And all the evil of the men of Shechem did God render upon their heads: and upon them came the curse of Jotham the son of Jerubbaal. %%% n'obubi bwonna obw'abasajja ab'omu Sekemu Katonda n'abuwalana ku mitwe gyabwe: n'okukolima kwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali ne kujja ku bo. 07JDG010.001 And after Abimelech there arose to defend Israel Tola the son of Puah, the son of Dodo, a man of Issachar; and he dwelt in Shamir in mount Ephraim. %%% Awo oluvannyuma lwa Abimereki ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo, omusajja wa Isakaali, okulokola Isiraeri; n'abeera mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi. 07JDG010.002 And he judged Israel twenty and three years, and died, and was buried in Shamir. %%% N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu esatu, n'afa, ne bamuziika mu Samiri. 07JDG010.003 And after him arose Jair, a Gileadite, and judged Israel twenty and two years. %%% Oluvannyuma lw'oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri. 07JDG010.004 And he had thirty sons that rode on thirty ass colts, and they had thirty cities, which are called Havothjair unto this day, which are in the land of Gilead. %%% Era yalina batabani be asatu, abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu, nabo baalina ebibuga asatu, bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi. 07JDG010.005 And Jair died, and was buried in Camon. %%% Yayiri n'afa ne bamuziika mu Kamoni. 07JDG010.006 And the children of Israel did evil again in the sight of the LORD, and served Baalim, and Ashtaroth, and the gods of Syria, and the gods of Zidon, and the gods of Moab, and the gods of the children of Ammon, and the gods of the Philistines, and forsook the LORD, and served not him. %%% Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali, ne Asutaloosi ne bakatonda ab'e Busuuli, ne bakatonda ab'e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu, ne bakatonda ab'abaana ba Amoni, ne bakatonda ab'Abafirisuuti; Mukama ne bamuvaako ne batamuweereza. 07JDG010.007 And the anger of the LORD was hot against Israel, and he sold them into the hands of the Philistines, and into the hands of the children of Ammon. %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gw'Abafirisuuti, ne mu mukono gw'abaana ba Amoni. 07JDG010.008 And that year they vexed and oppressed the children of Israel: eighteen years, all the children of Israel that were on the other side Jordan in the land of the Amorites, which is in Gilead. %%% Ne beeraliikiriza ne bajooga abaana ba Isiraeri omwaka ogwo: (baajoogera) emyaka kkumi na munaana abaana ba Isiraeri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi. 07JDG010.009 Moreover the children of Ammon passed over Jordan to fight also against Judah, and against Benjamin, and against the house of Ephraim; so that Israel was sore distressed. %%% Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa ne Yuda ne Benyamini n'ennyumba ya Efulayimu; n'okweraliikirira Isiraeri ne yeeraliikirira nnyo. 07JDG010.010 And the children of Israel cried unto the LORD, saying, We have sinned against thee, both because we have forsaken our God, and also served Baalim. %%% Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama nga boogera nti Twakusobya kubanga twava ku Katonda waffe; ne tuweereza Babaali. 07JDG010.011 And the LORD said unto the children of Israel, Did not I deliver you from the Egyptians, and from the Amorites, from the children of Ammon, and from the Philistines? %%% Mukama n'agamba abaana ba Isiraeri nti Saabalokola eri Abamisiri n'eri Abamoli, eri abaana ba Amoni n'eri Abafirisuuti? 07JDG010.012 The Zidonians also, and the Amalekites, and the Maonites, did oppress you; and ye cried to me, and I delivered you out of their hand. %%% Era ne Basidoni n'Abamaleki n'Abamawoni baabajooga; ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe. 07JDG010.013 Yet ye have forsaken me, and served other gods: wherefore I will deliver you no more. %%% Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala: kyenva nnema okugenda okubalokola nate. 07JDG010.014 Go and cry unto the gods which ye have chosen; let them deliver you in the time of your tribulation. %%% Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe. 07JDG010.015 And the children of Israel said unto the LORD, We have sinned: do thou unto us whatsoever seemeth good unto thee; deliver us only, we pray thee, this day. %%% Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti Twayonoona: tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi: kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde. 07JDG010.016 And they put away the strange gods from among them, and served the LORD: and his soul was grieved for the misery of Israel. %%% Ne baggya mu bo bakatonda abaggya ne baweereza Mukama: omwoyo gwe ne gumuluma olw'ennaku za Isiraeri. 07JDG010.017 Then the children of Ammon were gathered together, and encamped in Gilead. And the children of Israel assembled themselves together, and encamped in Mizpeh. %%% Awo abaana ba Amoni ne balyoka bakuŋŋaana ne basiisira mu Gireyaadi. Abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu Mizupa. 07JDG010.018 And the people and princes of Gilead said one to another, What man is he that will begin to fight against the children of Ammon? he shall be head over all the inhabitants of Gilead. %%% Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti Omusajja aluwa alisooka okulwanyisa abaana ba Amoni? oyo ye aliba omukulu w'abo bonna abatuula mu Gireyaadi. 07JDG011.001 Now Jephthah the Gileadite was a mighty man of valour, and he was the son of an harlot: and Gilead begat Jephthah. %%% Era Yefusa Omugireyaadi yali musajja wa maanyi muzira, era yali mwana w'omwenzi: Gireyaadi ye yazaala Yefusa. 07JDG011.002 And Gilead's wife bare him sons; and his wife's sons grew up, and they thrust out Jephthah, and said unto him, Thou shalt not inherit in our father's house; for thou art the son of a strange woman. %%% Omukazi ow'e Gireyaadi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; abaana ba mukazi we bwe baakula, ne bagoba Yefusa; ne bamugamba nti Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala. 07JDG011.003 Then Jephthah fled from his brethren, and dwelt in the land of Tob: and there were gathered vain men to Jephthah, and went out with him. %%% Awo Yefusa n'alyoka adduka baganda be, n’abeera mu nsi ye Tobu: abasajja abataliiko kye bagasa ne bakuŋŋaana eri Yefusa, ne batabaalanga naye. 07JDG011.004 And it came to pass in process of time, that the children of Ammon made war against Israel. %%% Awo olwatuuka ekiseera bwe kyayitawo abaana ba Amoni ne balwana ne Isiraeri. 07JDG011.005 And it was so, that when the children of Ammon made war against Israel, the elders of Gilead went to fetch Jephthah out of the land of Tob: %%% Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye, Tobu: 07JDG011.006 And they said unto Jephthah, Come, and be our captain, that we may fight with the children of Ammon. %%% ne bagamba Yefusa nti Jjangu obeere omukulu waffe, tulwane n'abaana ba Amoni. 07JDG011.007 And Jephthah said unto the elders of Gilead, Did not ye hate me, and expel me out of my father's house? and why are ye come unto me now when ye are in distress? %%% ne bagamba Yefusa nti Jjangu obeere omukulu waffe, tulwane n'abaana ba Amoni. 07JDG011.008 And the elders of Gilead said unto Jephthah, Therefore we turn again to thee now, that thou mayest go with us, and fight against the children of Ammon, and be our head over all the inhabitants of Gilead. %%% Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Kyetuvudde tukukyukira nate kaakano ogende naffe olwane n'abaana ba Amoni, naawe oliba mukulu waffe afuga bonna abatuula mu Gireyaadi. 07JDG011.009 And Jephthah said unto the elders of Gilead, If ye bring me home again to fight against the children of Ammon, and the LORD deliver them before me, shall I be your head? %%% Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti Bwe mulinkomyawo ewaffe okulwana n'abaana ba Amoni Mukama n'abagabula mu maaso gange, ndiba mukulu wammwe? 07JDG011.010 And the elders of Gilead said unto Jephthah, The LORD be witness between us, if we do not so according to thy words. %%% Abakadde We Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Mukama ye anaabanga omujulirwa wakati waffe; mazima n'ekigambo kyo bwe kiriba bwe tulikola bwe tutyo. 07JDG011.011 Then Jephthah went with the elders of Gilead, and the people made him head and captain over them: and Jephthah uttered all his words before the LORD in Mizpeh. %%% Awo Yefusa n'alyoka agenda n'abakadde ab'e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafuga: Yefusa n'ayogera ebigambo bye byonna mu maaso ga Mukama mu Mizupa. 07JDG011.012 And Jephthah sent messengers unto the king of the children of Ammon, saying, What hast thou to do with me, that thou art come against me to fight in my land? %%% Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni ng'ayogera nti Gw'olina ki nange, ekikuleese gye ndi okulwanyisa ensi yange? 07JDG011.013 And the king of the children of Ammon answered unto the messengers of Jephthah, Because Israel took away my land, when they came up out of Egypt, from Arnon even unto Jabbok, and unto Jordan: now therefore restore those lands again peaceably. %%% Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti Kubanga Isiraeri yanziyako ensi yange bwe yayambuka okuva mu Misiri, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani: kale kaakano zizze ensi ezo lwa mirembe. 07JDG011.014 And Jephthah sent messengers again unto the king of the children of Ammon: %%% Yefusa n'atuma nate ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni. 07JDG011.015 And said unto him, Thus saith Jephthah, Israel took not away the land of Moab, nor the land of the children of Ammon: %%% n'abagamba nti Yefusa bw'ayogera bw'atyo nti Isiraeri teyanyaga nsi ya Mowaabu, newakubadde ensi y'abaana ba Amoni: 07JDG011.016 But when Israel came up from Egypt, and walked through the wilderness unto the Red sea, and came to Kadesh; %%% naye bwe baayambuka okuva mu Misiri, Isiraeri bwe yali ayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, n'atuuka e Kadesi; 07JDG011.017 Then Israel sent messengers unto the king of Edom, saying, Let me, I pray thee, pass through thy land: but the king of Edom would not hearken thereto. And in like manner they sent unto the king of Moab: but he would not consent: and Israel abode in Kadesh. %%% Isiraeri n'alyoka atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti Nkwegayirira, ka mpite mu nsi yo: naye kabaka wa Edomu n'atawulira: Era n'atumira bw'atyo kabaka wa Mowaabu: naye n'atayagala: Isiraeri n'atuula mu Kadesi. 07JDG011.018 Then they went along through the wilderness, and compassed the land of Edom, and the land of Moab, and came by the east side of the land of Moab, and pitched on the other side of Arnon, but came not within the border of Moab: for Arnon was the border of Moab. %%% Awo n'alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala wa Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu: 07JDG011.019 And Israel sent messengers unto Sihon king of the Amorites, the king of Heshbon; and Israel said unto him, Let us pass, we pray thee, through thy land into my place. %%% Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli, kabaka w’e Kesuboni; Isiraeri n'amugamba nti Tukwegayirira; ka tuyitemu nsi yo ŋŋende mu kifo kyange. 07JDG011.020 But Sihon trusted not Israel to pass through his coast: but Sihon gathered all his people together, and pitched in Jahaz, and fought against Israel. %%% Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsalo ye; naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi, n'alwana ne Isiraeri: 07JDG011.021 And the LORD God of Israel delivered Sihon and all his people into the hand of Israel, and they smote them: so Israel possessed all the land of the Amorites, the inhabitants of that country. %%% Mukama Katonda wa Isiraeri; n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri; ne babatta: Isiraeri n'alyoka alya ensi yonna ey'Abamoli, be baatuula mu nsi eyo. 07JDG011.022 And they possessed all the coasts of the Amorites, from Arnon even unto Jabbok, and from the wilderness even unto Jordan. %%% Ne balya ensalo yonna ey'Abamoli, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki, era okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani. 07JDG011.023 So now the LORD God of Israel hath dispossessed the Amorites from before his people Israel, and shouldest thou possess it? %%% Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, yagobamu Abamoli mu maaso g'abantu be Isiraeri, naawe wandibalidde? 07JDG011.024 Wilt not thou possess that which Chemosh thy god giveth thee to possess? So whomsoever the LORD our God shall drive out from before us, them will we possess. %%% Tolirya nsi katonda wo Kemosi gy'akuwa okulya? Naffe bwe tutyo bonna Mukama Katonda waffe be yagobamu mu maaso gaffe, eyo gye tulirya. 07JDG011.025 And now art thou any thing better than Balak the son of Zippor, king of Moab? did he ever strive against Israel, or did he ever fight against them, %%% Ne kaakano gw'osinga Balaki mutabani wa ZipoIi, kabaka wa Mowaabu, n'akatono? yali awakanyeeko ne Isiraeri; oba yali alwaayeeko nabo? 07JDG011.026 While Israel dwelt in Heshbon and her towns, and in Aroer and her towns, and in all the cities that be along by the coasts of Arnon, three hundred years? why therefore did ye not recover them within that time? %%% Isiraeri bwe yali atuula mu Kesuboni n'ebyalo byakyo, ne mu Aloweri n'ebyalo byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku mabbali ga Alunoni, emyaka ebikumi bisatu; ekyabalobera ki okubiddamu okubirya mu kiseera ekyo? 07JDG011.027 Wherefore I have not sinned against thee, but thou doest me wrong to war against me: the LORD the Judge be judge this day between the children of Israel and the children of Ammon. %%% Kale nze sikwonoonanga, naye ggwe onsobezza okulwana nange: Mukama, Omulamuzi, alamule leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni. 07JDG011.028 Howbeit the king of the children of Ammon hearkened not unto the words of Jephthah which he sent him. %%% Naye kabaka w'abaana ba Amoni n'atawulira bigambo bya Yefusa bye yamutumira. 07JDG011.029 Then the Spirit of the LORD came upon Jephthah, and he passed over Gilead, and Manasseh, and passed over Mizpeh of Gilead, and from Mizpeh of Gilead he passed over unto the children of Ammon. %%% Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'ayita mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, n'ava e Mizupe eky'omu Gireyaadi n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni. 07JDG011.030 And Jephthah vowed a vow unto the LORD, and said, If thou shalt without fail deliver the children of Ammon into mine hands, %%% Yefusa ne yeeyama eri Mukama obweyamo n'agamba nti Oba ng'oligabulira ddala abaana ba Amoni mu mukono gwange; 07JDG011.031 Then it shall be, that whatsoever cometh forth of the doors of my house to meet me, when I return in peace from the children of Ammon, shall surely be the LORD's, and I will offer it up for a burnt offering. %%% awo olulituuka, ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z'ennyumba yange okunsisinkana, bwe ndikomawo emirembe okuva eri abaana ba Amoni, kiriba kya Mukama, nange ndikiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa: 07JDG011.032 So Jephthah passed over unto the children of Ammon to fight against them; and the LORD delivered them into his hands. %%% Awo Yefusa n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni okulwana nabo; Mukama n'abagabula mu mukono gwe. 07JDG011.033 And he smote them from Aroer, even till thou come to Minnith, even twenty cities, and unto the plain of the vineyards, with a very great slaughter. Thus the children of Ammon were subdued before the children of Israel. %%% N'abakuba okuva ku Aloweri okutuusa ng'ojja e Minnisi, bye bibuga abiri, n'okutuuka ku Aberukeramimu, n'abatta bangi nnyo: Abaana ba Amoni bwe baajeemulwa bwe batyo mu maaso g'abaana ba Isiraeri: 07JDG011.034 And Jephthah came to Mizpeh unto his house, and, behold, his daughter came out to meet him with timbrels and with dances: and she was his only child; beside her he had neither son nor daughter. %%% Yefusa n'ajja e Mizupa eri ennyumba ye, era, laba, muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'alina ebitaasa era nga bazina: era ye yali omwana we omu; teyalina wa bulenzi newakubadde ow'obuwala wabula ye. 07JDG011.035 And it came to pass, when he saw her, that he rent his clothes, and said, Alas, my daughter! thou hast brought me very low, and thou art one of them that trouble me: for I have opened my mouth unto the LORD, and I cannot go back. %%% Awo olwatuuka bwe yamulaba n'ayuzaayuza engoye ze n'ayogera nti Zinsanze, muwala wange! onnakuwazizza nnyo, naawe oli ku muwendo gw'abo abanneeraliikiriza: kubanga nayasama akamwa kange eri Mukama, so siyinza kuddirira. 07JDG011.036 And she said unto him, My father, if thou hast opened thy mouth unto the LORD, do to me according to that which hath proceeded out of thy mouth; forasmuch as the LORD hath taken vengeance for thee of thine enemies, even of the children of Ammon. %%% N'amugamba nti Kitange, wayasama akamwa ko eri Mukama; nkola ng'ekigambo bwe kyali ekyava mu kamwa ko; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni. 07JDG011.037 And she said unto her father, Let this thing be done for me: let me alone two months, that I may go up and down upon the mountains, and bewail my virginity, I and my fellows. %%% N'agamba kitaawe nti Ekigambo kino kinkolwe: ndekera emyezi ebiri, ŋŋende nserengetere ku nsozi, nkaabire obutamanya bwange musajja, nze ne bannange. 07JDG011.038 And he said, Go. And he sent her away for two months: and she went with her companions, and bewailed her virginity upon the mountains. %%% N'agamba nti Genda: N'amusiibula amale emyezi ebiri: n'agenda, ye ne banne, n'akaabira obutamanya bwe musajja ne bumukaabisiza eyo ku nsozi. 07JDG011.039 And it came to pass at the end of two months, that she returned unto her father, who did with her according to his vow which he had vowed: and she knew no man. And it was a custom in Israel, %%% Awo olwatuuka emyezi ebiri bwe gyaggwaako, n'akomawo eri kitaawe, n'amukola ng'obweyamo bwe bwe bwali bwe yeeyama: era yali tannamanya musajja. 07JDG011.040 That the daughters of Israel went yearly to lament the daughter of Jephthah the Gileadite four days in a year. %%% Ne wabangawo empisa mu Isiraeri, abawala ba Isiraeri okugendanga buli mwaka okujjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi ennaku nnya buli mwaka. 07JDG012.001 And the men of Ephraim gathered themselves together, and went northward, and said unto Jephthah, Wherefore passedst thou over to fight against the children of Ammon, and didst not call us to go with thee? we will burn thine house upon thee with fire. %%% Abasajja ba Efulayimu ne bakuŋŋaana ne bayita okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; ne bagamba Yefusa nti Kiki ekyakusomosa okugenda okulwana n'abaana ba Amoni, n'ototuyita ffe okugenda naawe? tulikwokerera ennyumba yo omuliro. 07JDG012.002 And Jephthah said unto them, I and my people were at great strife with the children of Ammon; and when I called you, ye delivered me not out of their hands. %%% Yefusa n'abagamba nti Nze n'abantu bange twali tulwana nnyo n'abaana ba Amoni; awo bwe nnabayita ne mutandokola mu mukono gwabwe. 07JDG012.003 And when I saw that ye delivered me not, I put my life in my hands, and passed over against the children of Ammon, and the LORD delivered them into my hand: wherefore then are ye come up unto me this day, to fight against me? %%% Awo bwe nnalaba nga temundokodde, obulamu bwange ne mbuteeka mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n'abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange: kale, kiki ekibalinnyisa leero gye ndi okulwana nange? 07JDG012.004 Then Jephthah gathered together all the men of Gilead, and fought with Ephraim: and the men of Gilead smote Ephraim, because they said, Ye Gileadites are fugitives of Ephraim among the Ephraimites, and among the Manassites. %%% Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi n'alwana ne Efulayimu: abasajja ab'e Gireyaadi ne bakuba Efulayimu, kubanga baayogera nti Muli badduse ba Efulayimu mmwe ab'e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu (ne) wakati mu Manase. 07JDG012.005 And the Gileadites took the passages of Jordan before the Ephraimites: and it was so, that when those Ephraimites which were escaped said, Let me go over; that the men of Gilead said unto him, Art thou an Ephraimite? If he said, Nay; %%% Ab'e Gireyaadi ne beekwata emisomoko gya Yoludaani okuteega Abaefulayimu: awo olwatuuka (omuntu yenna) ku badduse ba Efulayimu bwe yayogera nti Nsomoke, ab'e Gireyaadi ne bamugamba nti Oli Mwefulayimu? Bwe yayogera nti Nedda; 07JDG012.006 Then said they unto him, Say now Shibboleth: and he said Sibboleth: for he could not frame to pronounce it right. Then they took him, and slew him at the passages of Jordan: and there fell at that time of the Ephraimites forty and two thousand. %%% ne balyoka bamugamba nti Kale nno yogera Shibbolesi; n'ayogera nti Sibbolesi; kubanga teyayinza kukiruŋŋamya kukituusa bulungi; ne balyoka bamukwata, ne bamuttira ku misomoko gya Yoludaani; ne bafa ku Efulayimu mu biro ebyo obukumi buna mu enkumi bbiri. 07JDG012.007 And Jephthah judged Israel six years. Then died Jephthah the Gileadite, and was buried in one of the cities of Gilead. %%% Yefusa n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n'alyoka afa, ne bamuziika mu kibuga kimu ku by'omu Gireyaadi. 07JDG012.008 And after him Ibzan of Bethlehem judged Israel. %%% Awo oluvannyuma lwe Ibuzaani ow'e Besirekemu n'alamula Isiraeri. 07JDG012.009 And he had thirty sons, and thirty daughters, whom he sent abroad, and took in thirty daughters from abroad for his sons. And he judged Israel seven years. %%% Era yalina batabani be asatu, era yasindika abawala be asatu okugenda mu nsi endala, n'aggya abawala asatu mu nsi endala n'abawasiza batabani be. N'alamulira Isiraeri emyaka musanvu. 07JDG012.010 Then died Ibzan, and was buried at Bethlehem. %%% Ibuzaani n'afa, ne bamuziika mu Besirekemu. 07JDG012.011 And after him Elon, a Zebulonite, judged Israel; and he judged Israel ten years. %%% Awo oluvannyuma lwe Eroni Omuzebbulooni n'alamula Isiraeri; n'alamulira Isiraeri emyaka kkumi. 07JDG012.012 And Elon the Zebulonite died, and was buried in Aijalon in the country of Zebulun. %%% Eroni Omuzebbulooni n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni. 07JDG012.013 And after him Abdon the son of Hillel, a Pirathonite, judged Israel. %%% Awo oluvannyuma lwe Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'alamula Isiraeri. 07JDG012.014 And he had forty sons and thirty nephews, that rode on threescore and ten ass colts: and he judged Israel eight years. %%% Era yalina batabani be ana n'abazzukulu be asatu, abeebagalanga ku baana b'endogoyi nsanvu: n'alamulira Isiraeri emyaka munaana. 07JDG012.015 And Abdon the son of Hillel the Pirathonite died, and was buried in Pirathon in the land of Ephraim, in the mount of the Amalekites. %%% Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'afa, ne bamuziika mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey'Abamaleki ey'ensozi. 07JDG013.001 And the children of Israel did evil again in the sight of the LORD; and the LORD delivered them into the hand of the Philistines forty years. %%% Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; Mukama n'abagabulira mu mukono gw'Abafirisuuti emyaka ana. 07JDG013.002 And there was a certain man of Zorah, of the family of the Danites, whose name was Manoah; and his wife was barren, and bare not. %%% Era waaliwo omusajja ow’e Zola, ow’ekika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa: ne mukazi we yali mugumba ng'atazaala. 07JDG013.003 And the angel of the LORD appeared unto the woman, and said unto her, Behold now, thou art barren, and bearest not: but thou shalt conceive, and bear a son. %%% Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti Laba nno, oli mugumba so tozaala: naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi. 07JDG013.004 Now therefore beware, I pray thee, and drink not wine nor strong drink, and eat not any unclean thing: %%% Kale nno weekuume nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu: 07JDG013.005 For, lo, thou shalt conceive, and bear a son; and no razor shall come on his head: for the child shall be a Nazarite unto God from the womb: and he shall begin to deliver Israel out of the hand of the Philistines. %%% kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala; omwana wa bulenzi; so akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto: era ye alitanula okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti. 07JDG013.006 Then the woman came and told her husband, saying, A man of God came unto me, and his countenance was like the countenance of an angel of God, very terrible: but I asked him not whence he was, neither told he me his name: %%% Awo omukazi n'alyoka ajja abuulira bba, ng'ayogera nti Omusajja wa Katonda azze gye ndi, n'amaaso ge gabadde ng'amaaso ga malayika oyo owa Katonda, ag'entiisa ennyingi; so simubuuzizza gy'avudde, so n'atambuulira linnya lye: 07JDG013.007 But he said unto me, Behold, thou shalt conceive, and bear a son; and now drink no wine nor strong drink, neither eat any unclean thing: for the child shall be a Nazarite to God from the womb to the day of his death. %%% naye n'aŋŋamba nti Laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; ne kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku olw'okufa kwe. 07JDG013.008 Then Manoah intreated the LORD, and said, O my Lord, let the man of God which thou didst send come again unto us, and teach us what we shall do unto the child that shall be born. %%% Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye tuli olw'okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa. 07JDG013.009 And God hearkened to the voice of Manoah; and the angel of God came again unto the woman as she sat in the field: but Manoah her husband was not with her. %%% Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda n'ajjira omukazi olw'okubiri bwe yali atudde mu nnimiro: naye Manowa bba teyali naye. 07JDG013.010 And the woman made haste, and ran, and shewed her husband, and said unto him, Behold, the man hath appeared unto me, that came unto me the other day. %%% Omukazi n'ayanguwa n'adduka n'abuulira bba n'amugamba nti Laba, omusajja andabikidde eyanjijira olulala. 07JDG013.011 And Manoah arose, and went after his wife, and came to the man, and said unto him, Art thou the man that spakest unto the woman? And he said, I am. %%% Manowa n'agolokoka n'agoberera mukazi we, n'ajja eri omusajja n'amugamba nti Ggwe oli omusajja eyayogera n'omukazi? N'agamba nti Nze wuuno. 07JDG013.012 And Manoah said, Now let thy words come to pass. How shall we order the child, and how shall we do unto him? %%% Manowa n'agamba nti Kale nno ebigambo byo bituukirire; omwana alifaanana atya, n'omulimu gwe (guliba ki)? 07JDG013.013 And the angel of the LORD said unto Manoah, Of all that I said unto the woman let her beware. %%% Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti Byonna bye nnabuulira omukazi abyekuumenga. 07JDG013.014 She may not eat of any thing that cometh of the vine, neither let her drink wine or strong drink, nor eat any unclean thing: all that I commanded her let her observe. %%% Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatenga. 07JDG013.015 And Manoah said unto the angel of the LORD, I pray thee, let us detain thee, until we shall have made ready a kid for thee. %%% Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Nkwegayirira, tukulwiseewo, tukuteekereteekere omwana gw'embuzi. 07JDG013.016 And the angel of the LORD said unto Manoah, Though thou detain me, I will not eat of thy bread: and if thou wilt offer a burnt offering, thou must offer it unto the LORD. For Manoah knew not that he was an angel of the LORD. %%% Malayika wa Mukama n'agamba Maaowa nti Newakubadde ng'onondwisaawo sijja kulya ku mmere yo: era bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira okukiwa Mukama. Kubanga Manowa yali tamanyi nga Ye malayika wa Mukama. 07JDG013.017 And Manoah said unto the angel of the LORD, What is thy name, that when thy sayings come to pass we may do thee honour? %%% Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Erinnya lyo ggwe ani, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukuwe ekitiibwa? 07JDG013.018 And the angel of the LORD said unto him, Why askest thou thus after my name, seeing it is secret? %%% Malayika wa Mukama n'amugamba nti Obuuliza ki erinnya lyange, kubanga lya kitalo? 07JDG013.019 So Manoah took a kid with a meat offering, and offered it upon a rock unto the LORD: and the angel did wonderously; and Manoah and his wife looked on. %%% Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; ne (malayika) n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira. 07JDG013.020 For it came to pass, when the flame went up toward heaven from off the altar, that the angel of the LORD ascended in the flame of the altar. And Manoah and his wife looked on it, and fell on their faces to the ground. %%% Kubanga olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu ggulu, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogw'oku kyoto: Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira ne bavuuaama amaso gaabwe. 07JDG013.021 But the angel of the LORD did no more appear to Manoah and to his wife. Then Manoah knew that he was an angel of the LORD. %%% Naye malayika wa Mukama n'atalabikira nate Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga Ye malayika wa Mukama. 07JDG013.022 And Manoah said unto his wife, We shall surely die, because we have seen God. %%% Manowa n'agamba mukazi we nti Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda. 07JDG013.023 But his wife said unto him, If the LORD were pleased to kill us, he would not have received a burnt offering and a meat offering at our hands, neither would he have shewed us all these things, nor would as at this time have told us such things as these. %%% Naye mukazi we n'amugamba nti Oba nga Mukama abadde ayagala okututta, teyandikkirizza ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta eri omukono gwaffe, so teyanditulaze bigambo ebyo byonna, so teyanditubuulidde mu biro bino ebigambo ebiri bwe bityo. 07JDG013.024 And the woman bare a son, and called his name Samson: and the child grew, and the LORD blessed him. %%% Omukazi n’azaala omwana wa bulenzi, n’amutuuma erinnya Samusooni: omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa. 07JDG013.025 And the Spirit of the LORD began to move him at times in the camp of Dan between Zorah and Eshtaol. %%% Omwoyo gwa Mukama ne gusooka okumusindika mu Makanedani, wakati w’e Zola ne Esutaoli. 07JDG014.001 And Samson went down to Timnath, and saw a woman in Timnath of the daughters of the Philistines. %%% Samusooni n'aserengeta e Timuna, n'alaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti. 07JDG014.002 And he came up, and told his father and his mother, and said, I have seen a woman in Timnath of the daughters of the Philistines: now therefore get her for me to wife. %%% N'ayambuka okuvaayo, n'abuulira kitaawe ne nnyina n'abagamba nti Nalaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti: kale nno mumpasize oyo. 07JDG014.003 Then his father and his mother said unto him, Is there never a woman among the daughters of thy brethren, or among all my people, that thou goest to take a wife of the uncircumcised Philistines? And Samson said unto his father, Get her for me; for she pleaseth me well. %%% Awo kitaawe ne nnyina ne balyoka bamugamba nti Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi ku Bafirisuuti abatali bakomole? Samusooni n'agamba kitaawe nti Mpasiza oyo; kubanga mmusiima nnyo. 07JDG014.004 But his father and his mother knew not that it was of the LORD, that he sought an occasion against the Philistines: for at that time the Philistines had dominion over Israel. %%% Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga kyava eri Mukama; kubanga yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti baali bafuga Isiraeri. 07JDG014.005 Then went Samson down, and his father and his mother, to Timnath, and came to the vineyards of Timnath: and, behold, a young lion roared against him. %%% Awo Samusooni n'alyoka aserengeta e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, ne batuuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna: era, laba, empologoma envubuka n'emuwulugumirako. 07JDG014.006 And the Spirit of the LORD came mightily upon him, and he rent him as he would have rent a kid, and he had nothing in his hand: but he told not his father or his mother what he had done. %%% Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga talina kintu mu ngalo ze: naye n'atabuulira kitaawe newakubadde nnyina ky'akoze. 07JDG014.007 And he went down, and talked with the woman; and she pleased Samson well. %%% N'aserengeta n'anyumya n'omukazi, Samusooni n'amusiima nnyo. 07JDG014.008 And after a time he returned to take her, and he turned aside to see the carcase of the lion: and, behold, there was a swarm of bees and honey in the carcase of the lion. %%% Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumutwala, n'akyama okulaba omulambo gw'empologoma: era, laba, enjuki nga ziri mu mulambo gw'empologoma n'omubisi gw'enjuki. 07JDG014.009 And he took thereof in his hands, and went on eating, and came to his father and mother, and he gave them, and they did eat: but he told not them that he had taken the honey out of the carcase of the lion. %%% N'agutwala n'engalo ze, n'agenda ng'alya atambula, n'ajjira kitaawe ne nnyina, n'abawaako, ne balya: naye n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma. 07JDG014.010 So his father went down unto the woman: and Samson made there a feast; for so used the young men to do. %%% Kitaawe n'aserengeta eri omukazi: Samusooni n'afumbayo embaga; kubanga bwe baayisanga okukola bwe batyo. 07JDG014.011 And it came to pass, when they saw him, that they brought thirty companions to be with him. %%% Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu okubeera naye. 07JDG014.012 And Samson said unto them, I will now put forth a riddle unto you: if ye can certainly declare it me within the seven days of the feast, and find it out, then I will give you thirty sheets and thirty change of garments: %%% Samusooni n'abagamba nti Kaakano ka mbakokkolere ekikokko: bwe muliyinza okukinzivuunula ennaku omusanvu ez'embaga nga tezinnaggwaawo, ne mukitegeera, ne ndyoka mbawa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu: 07JDG014.013 But if ye cannot declare it me, then shall ye give me thirty sheets and thirty change of garments. And they said unto him, Put forth thy riddle, that we may hear it. %%% naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu. Ne bamugamba nti Kokkola ekikokko kyo tukiwulire. 07JDG014.014 And he said unto them, Out of the eater came forth meat, and out of the strong came forth sweetness. And they could not in three days expound the riddle. %%% N'abagamba nti Mu mulyi mwavaamu emmere, Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu. Ennaku ssatu ne ziyitawo ne balemwa okuvvuunula ekikokko. 07JDG014.015 And it came to pass on the seventh day, that they said unto Samson's wife, Entice thy husband, that he may declare unto us the riddle, lest we burn thee and thy father's house with fire: have ye called us to take that we have? is it not so? %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne bagamba mukazi wa Samusooni nti Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo: mwatuyita okutwavuwaza? si bwe kiri? 07JDG014.016 And Samson's wife wept before him, and said, Thou dost but hate me, and lovest me not: thou hast put forth a riddle unto the children of my people, and hast not told it me. And he said unto her, Behold, I have not told it my father nor my mother, and shall I tell it thee? %%% Mukazi wa Samusooni n'akaaba amaziga mu maaso ge n'agamba nti Onkyawa bukyayi, so tonjagala: wakokkolera ekikokko abaana b'abantu bange n'otokimbuulirako nze. N'amugamba nti Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaakibuulirako? 07JDG014.017 And she wept before him the seven days, while their feast lasted: and it came to pass on the seventh day, that he told her, because she lay sore upon him: and she told the riddle to the children of her people. %%% N'akaabira amaziga mu maaso ge ennaku musanvu embaga ng'ekyaliwo: awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira kubanga yamutayirira nnyo: n'abuulira abaana b'abantu be ekikokko kye yakokkola. 07JDG014.018 And the men of the city said unto him on the seventh day before the sun went down, What is sweeter than honey? And what is stronger than a lion? And he said unto them, If ye had not plowed with my heifer, ye had not found out my riddle. %%% Abasajja ab'omu kibuga ne bamugamba ku lunaku olw'omusanvu enjuba nga tennagwa nti Ekisinga omnbisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? era ekisinga empologoma amaanyi kiki? N'agamba nti Singa temwalimya nte yange, Temwandivvuunudde kikokko kyange. 07JDG014.019 And the Spirit of the LORD came upon him, and he went down to Ashkelon, and slew thirty men of them, and took their spoil, and gave change of garments unto them which expounded the riddle. And his anger was kindled, and he went up to his father's house. %%% Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukulooni, n'abattamu abasajja asatu, n'anyaga omunyago gwabwe, n'abawa emiteeko (gy'engoye) abo abavvuunula ekikokko. Obusungu bwe ne bubuubuuka, n'ayambuka eri ennyumba ya kitaawe. 07JDG014.020 But Samson's wife was given to his companion, whom he had used as his friend. %%% Naye mukazi wa Samusooni ne bamuwa munne, gwe yabanga naye nga ba mukwano. 07JDG015.001 But it came to pass within a while after, in the time of wheat harvest, that Samson visited his wife with a kid; and he said, I will go in to my wife into the chamber. But her father would not suffer him to go in. %%% Naye olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, nga bakungula eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we ng'alina omwana gw'embuzi; n'ayogera nti Naayingira eri mukazi wange mu nju. Naye kitaawe n'atamuganya kuyingira. 07JDG015.002 And her father said, I verily thought that thou hadst utterly hated her; therefore I gave her to thy companion: is not her younger sister fairer than she? take her, I pray thee, instead of her. %%% Kitaawe n'agamba nti Mazima mbadde ndowooza nga wamukyayira ddala; kyennava muwa munno: muganda we omuto tamusinga bulungi? nkwegayiridde, mutwale mu kifo kye. 07JDG015.003 And Samson said concerning them, Now shall I be more blameless than the Philistines, though I do them a displeasure. %%% Samusooni n'abagamba nti Omulundi guno ndiba nga siriiko musango eri Abafirisuuti, bwe ndibakolera akabi. 07JDG015.004 And Samson went and caught three hundred foxes, and took firebrands, and turned tail to tail, and put a firebrand in the midst between two tails. %%% Samusooni n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'addira ebitawuliro, n'abikwataganya emikira, n'ateeka ekitawuliro wakati w'emikira kinneebirye. 07JDG015.005 And when he had set the brands on fire, he let them go into the standing corn of the Philistines, and burnt up both the shocks, and also the standing corn, with the vineyards and olives. %%% Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'abita okugenda mu ŋŋaano eri mu nnimiro ey'Abafirisuuti, n'ayokya ebinywa era n'eŋŋaano eri mu nnimiro, era n'ensuku z'emizeyituuni. 07JDG015.006 Then the Philistines said, Who hath done this? And they answered, Samson, the son in law of the Timnite, because he had taken his wife, and given her to his companion. And the Philistines came up, and burnt her and her father with fire. %%% Awo Abafirisuuti ne balyoka boogera nti Akoze bw'atyo ye ani? Ne boogera nti Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yatwala mukazi we n'amuwa munne. Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe nmuliro. 07JDG015.007 And Samson said unto them, Though ye have done this, yet will I be avenged of you, and after that I will cease. %%% Samusooni n'abagamba nti Bwe mukola bwe mutyo, sirirema kubawalanako ggwanga, ne ndyoka ndekera awo. 07JDG015.008 And he smote them hip and thigh with a great slaughter: and he went down and dwelt in the top of the rock Etam. %%% N'abattira ddala nnyo nnyini bangi nnyo: n'aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu. 07JDG015.009 Then the Philistines went up, and pitched in Judah, and spread themselves in Lehi. %%% Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bayanjaala mu Leki. 07JDG015.010 And the men of Judah said, Why are ye come up against us? And they answered, To bind Samson are we come up, to do to him as he hath done to us. %%% Abasajja ba Yuda ne boogera nti Kiki ekibayambusizza okulwana naffe? Ne boogera nti Twambuse okusiba Samusooni, okumukola nga bwe yatukola ffe. 07JDG015.011 Then three thousand men of Judah went to the top of the rock Etam, and said to Samson, Knowest thou not that the Philistines are rulers over us? what is this that thou hast done unto us? And he said unto them, As they did unto me, so have I done unto them. %%% Awo abasajja enkumi ssatu aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti Tomanyi nga Abafirisuuti batufuga? kale kino kiki kye watukola? N'abagamba nti Bo nga bwe bankola, nange bwe nnabakola. 07JDG015.012 And they said unto him, We are come down to bind thee, that we may deliver thee into the hand of the Philistines. And Samson said unto them, Swear unto me, that ye will not fall upon me yourselves. %%% Ne bamugamba nti Tuserengese okukusiba, tukugabule mu mukono gw'Abafirisuuti. Samusooni n'abagamba nti Mundayirire obutangwako mmwe bennyini. 07JDG015.013 And they spake unto him, saying, No; but we will bind thee fast, and deliver thee into their hand: but surely we will not kill thee. And they bound him with two new cords, and brought him up from the rock. %%% Ne boogera naye nga bagamba nti Nedda; naye tunaakusibira ddala, ne tukugabula mu mukono gwabwe: naye mazima tetuukutte. Ne bamusibya emigwa ebiri emiggya, ne bamulinnyisa okuva mu jjinja. 07JDG015.014 And when he came unto Lehi, the Philistines shouted against him: and the Spirit of the LORD came mightily upon him, and the cords that were upon his arms became as flax that was burnt with fire, and his bands loosed from off his hands. %%% Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne boogerera waggulu bwe baasisinkana naye: omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'emigwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye. 07JDG015.015 And he found a new jawbone of an ass, and put forth his hand, and took it, and slew a thousand men therewith. %%% N'alaba oluba lw'endogoyi olubisi, n'agolola omukono gwe, n'aluddira, n'alussa abasajja lukumi. 07JDG015.016 And Samson said, With the jawbone of an ass, heaps upon heaps, with the jaw of an ass have I slain a thousand men. %%% Samusooni n’ayogera nti Oluba lw'endogoyi, entuumo n'entuumo, Oluba lw'endogoyi lwe nzisizza abasajja olukumi. 07JDG015.017 And it came to pass, when he had made an end of speaking, that he cast away the jawbone out of his hand, and called that place Ramathlehi. %%% Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula oluba okuva mu ngalo ze; ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamasuleki: 07JDG015.018 And he was sore athirst, and called on the LORD, and said, Thou hast given this great deliverance into the hand of thy servant: and now shall I die for thirst, and fall into the hand of the uncircumcised? %%% Ennyonta n'emuluma nnyo, n'akaabira Mukama, n’ayogera nti Otuwadde okulokoka kuno okunene n'omukono gw'omuddu wo: ne kaakano ennyonta enenzita, ne ngwa mu mukono gw'abatali bakomole. 07JDG015.019 But God clave an hollow place that was in the jaw, and there came water thereout; and when he had drunk, his spirit came again, and he revived: wherefore he called the name thereof Enhakkore, which is in Lehi unto this day. %%% Naye Katonda n'ayasa ekinnya ekiri mu Leki, amazzi ne gavaamu; awo bwe yamala okunywa, omwoyo gwe ne gumuddamu, n'alamuka: kyerwava lutuumibwa erinnya Enkakkole, oluli mu Leki, okutuusa leero. 07JDG015.020 And he judged Israel in the days of the Philistines twenty years. %%% N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu nnaku z'Abafiiisuuti. 07JDG016.001 Then went Samson to Gaza, and saw there an harlot, and went in unto her. %%% Samusooni n'agenda e Gaza, n'alabayo omukazi omwenzi, n'ayingira gy'ali. 07JDG016.002 And it was told the Gazites, saying, Samson is come hither. And they compassed him in, and laid wait for him all night in the gate of the city, and were quiet all the night, saying, In the morning, when it is day, we shall kill him. %%% (Ne babuulira) ab'e Gaza nti Samusooni atuuse wano: Ne bamuzingiza, ne bamuteegera mu mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, nga boogera nti Obudde bukye tulyoke tumutte. 07JDG016.003 And Samson lay till midnight, and arose at midnight, and took the doors of the gate of the city, and the two posts, and went away with them, bar and all, and put them upon his shoulders, and carried them up to the top of an hill that is before Hebron. %%% Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n'agolokoka mu ttumbi, n'akwata enzigi z'omuzigo gw'ekibuga, n'emifuubeeto gyombi, n'abisimbulira ddala byonna era n'ekisiba, n’abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso g'e Kebbulooni. 07JDG016.004 And it came to pass afterward, that he loved a woman in the valley of Sorek, whose name was Delilah. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma n'ayagala omukazi mu kiwonvu Soleki, erinnya lye Derira. 07JDG016.005 And the lords of the Philistines came up unto her, and said unto her, Entice him, and see wherein his great strength lieth, and by what means we may prevail against him, that we may bind him to afflict him: and we will give thee every one of us eleven hundred pieces of silver. %%% Abakungu b'Abafirisuuti ne bayambuka gy'ali, ne bamugamba nti Musendeseade olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, era kwe tulisinziira okumusobola, tumusibe tumujeeze: naffe tulikuwa buli muntu ku ffe ebitundu ebya ffeeza lukumi mu kikumi. 07JDG016.006 And Delilah said to Samson, Tell me, I pray thee, wherein thy great strength lieth, and wherewith thou mightest be bound to afflict thee. %%% Derira n'agamba Samusooni nti Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era ekiyinza okukusiba okukujeeza. 07JDG016.007 And Samson said unto her, If they bind me with seven green withs that were never dried, then shall I be weak, and be as another man. %%% Samusooni n'amugamba nti Bwe balinsibya enkolokolo embisi omusanvu ezitakaze, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala. 07JDG016.008 Then the lords of the Philistines brought up to her seven green withs which had not been dried, and she bound him with them. %%% Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bamuleetera enkolokolo embisi omusanvu ezitakaze, n'amusibya ezo. 07JDG016.009 Now there were men lying in wait, abiding with her in the chamber. And she said unto him, The Philistines be upon thee, Samson. And he brake the withs, as a thread of tow is broken when it toucheth the fire. So his strength was not known. %%% Era omukazi yalina abateezi abaabeera mu nju ey'omunda: N'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'akutula enkolokolo, ng'omugwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gutuuse ku muliro: Awo amaanyi ge ne gatategeereka: 07JDG016.010 And Delilah said unto Samson, Behold, thou hast mocked me, and told me lies: now tell me, I pray thee, wherewith thou mightest be bound. %%% Derira n'agamba Samusooni nti Laba, onduulidde, era onnimbye: kaakano nkwegayiridde, mbuulira ekiyinza okukusiba. 07JDG016.011 And he said unto her, If they bind me fast with new ropes that never were occupied, then shall I be weak, and be as another man. %%% N'amugamba nti Bwe balinsibya obusibya emigwa emiggya egitakozesebwanga ku mirimu, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala. 07JDG016.012 Delilah therefore took new ropes, and bound him therewith, and said unto him, The Philistines be upon thee, Samson. And there were liers in wait abiding in the chamber. And he brake them from off his arms like a thread. %%% Awo Derira n'addira emigwa emiggya, n'amusibya egyo, n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. Era abateezi baali bali mu nju ey'omunda. N'agikutula ku mikono gye ng'ewuzi. 07JDG016.013 And Delilah said unto Samson, Hitherto thou hast mocked me, and told me lies: tell me wherewith thou mightest be bound. And he said unto her, If thou weavest the seven locks of my head with the web. %%% Derira n'agamba Samusooni nti Okutuusa kaakano onduulira era onnimba bulimbi: mbuulira ekiyinza okukusiba. N'amugamba nti Bw'onooluka emivumbo egy'oku mutwe gwange omusanvu n'engoye ezirukibwa. 07JDG016.014 And she fastened it with the pin, and said unto him, The Philistines be upon thee, Samson. And he awaked out of his sleep, and went away with the pin of the beam, and with the web. %%% N'azisibira ddala n'olubambo n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azukuuka mu tulo twe, n'akwakula olubambo lw'omuti ogulukirwako, n'engoye ezirukibwa. 07JDG016.015 And she said unto him, How canst thou say, I love thee, when thine heart is not with me? thou hast mocked me these three times, and hast not told me wherein thy great strength lieth. %%% N'amugamba nti Oyinza otya okwogera nti Nkwagala, omutima gwo nga teguli mange? waakanduulira emirundi gino esatu, so tonnambuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka. 07JDG016.016 And it came to pass, when she pressed him daily with her words, and urged him, so that his soul was vexed unto death; %%% Awo olwatuuka bwe yamutayiriranga buli lunaku n'ebigambo bye n'amwegayiriranga, obulamu bwe ne bwagala okufa ennaku. 07JDG016.017 That he told her all his heart, and said unto her, There hath not come a razor upon mine head; for I have been a Nazarite unto God from my mother's womb: if I be shaven, then my strength will go from me, and I shall become weak, and be like any other man. %%% N'amubuulira byonna (ebyali mu) mutima gwe, n'amugamba nti Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange; kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange: bwe ndiba nga mmwereddwa, amaanyi gange ne galyoka ganvaako, ne nfuuka nmunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna. 07JDG016.018 And when Delilah saw that he had told her all his heart, she sent and called for the lords of the Philistines, saying, Come up this once, for he hath shewed me all his heart. Then the lords of the Philistines came up unto her, and brought money in their hand. %%% Derira bwe yalaba ng'amubuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe, n'atuma n'ayita abakungu b'Abafirisuuti ng'ayogera nti Mwambuke omulundi guno gwokka, kubanga ambuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe. Awo abakungu b'Abafirisuuti ne balyoka bayambuka gy'ali nga baleeta effeeza mu ngalo zaabwe. 07JDG016.019 And she made him sleep upon her knees; and she called for a man, and she caused him to shave off the seven locks of his head; and she began to afflict him, and his strength went from him. %%% N'amwebasa ku maviivi ge; n'ayita omusajja, n'amwa emivumbo egy'oku mutwe gwe omusanvu; n'atanula okumujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako. 07JDG016.020 And she said, The Philistines be upon thee, Samson. And he awoke out of his sleep, and said, I will go out as at other times before, and shake myself. And he wist not that the LORD was departed from him. %%% N'ayogera nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azuukuka mu tulo twe n'ayogera nti Naafuluma ng'obw'edda, ne nneekunkumula. Naye yali tamanyi nga Mukama amulese. 07JDG016.021 But the Philistines took him, and put out his eyes, and brought him down to Gaza, and bound him with fetters of brass; and he did grind in the prison house. %%% Awo Abafirisuuti ne bamukwata, ne baggyamu amaaso ge; ne bamuserengesa e Gaza, ne bamusibya enjegere z'ebikomo: n'aseeranga mu nnyumba ey'ekkomera. 07JDG016.022 Howbeit the hair of his head began to grow again after he was shaven. %%% Naye enviiri ez'oku mutwe gwe ne zitanula okumera bwe yamala okumwebwa. 07JDG016.023 Then the lords of the Philistines gathered them together for to offer a great sacrifice unto Dagon their god, and to rejoice: for they said, Our god hath delivered Samson our enemy into our hand. %%% Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka ennene eri Dagoni katonda waabwe n'okusanyuka: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe: 07JDG016.024 And when the people saw him, they praised their god: for they said, Our god hath delivered into our hands our enemy, and the destroyer of our country, which slew many of us. %%% Awo abantu bwe baamulaba ne batendereza katonda waabwe: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde omulabe waffe mu mukono gwaffe, era omuzikiriza w'ensi y'ewaffe, eyatuttako abangi. 07JDG016.025 And it came to pass, when their hearts were merry, that they said, Call for Samson, that he may make us sport. And they called for Samson out of the prison house; and he made them sport: and they set him between the pillars. %%% Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyali gisanyuse, ne boogera nti Muyite Samusooni atunyumizeeko. Ne bayita Samusooni okumuggya mu nnyumba ey'ekkomera: n'abanyumizaako (ng'ali) mu maaso gaabwe: ne bamuteeka wakati w'empagi: 07JDG016.026 And Samson said unto the lad that held him by the hand, Suffer me that I may feel the pillars whereupon the house standeth, that I may lean upon them. %%% Samusooni n'agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti Ndeka okuwammanta empagi eziwanirira enju, nzeesigameko. 07JDG016.027 Now the house was full of men and women; and all the lords of the Philistines were there; and there were upon the roof about three thousand men and women, that beheld while Samson made sport. %%% Era enju yali ejjudde abasajja n’abakazi; era abakungu b'Abafirisuuti baali bali awo bonna; ne waggulu ku nju kwaliko abasajja n'abakazi nga nkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng'abanyumizaako. 07JDG016.028 And Samson called unto the LORD, and said, O Lord God, remember me, I pray thee, and strengthen me, I pray thee, only this once, O God, that I may be at once avenged of the Philistines for my two eyes. %%% Awo Samusooni n'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, njijukira, nkwegayirira, ompe amaanyi, nkwegayirira, omulundi guno gwokka, ai Katonda, mpalane eggwanga mangu ago ku Bafirisuuti olw'amaaso gange gombi. 07JDG016.029 And Samson took hold of the two middle pillars upon which the house stood, and on which it was borne up, of the one with his right hand, and of the other with his left. %%% Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati ezaawanirira enju, n'azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku emu, n'ogwa kkono nga guli ku ndala: 07JDG016.030 And Samson said, Let me die with the Philistines. And he bowed himself with all his might; and the house fell upon the lords, and upon all the people that were therein. So the dead which he slew at his death were more than they which he slew in his life. %%% Samusooni n'ayogera nti Nfiire wamu n'Abafirisuuti. N'akutama n'amaanyi ge gonna; enju n'egwa ku bakungu ne ku bantu bonna abaali omwo. Bwe batyo abaafa be yattira mu kufa kwe baali bangi okusinga be yatta nga mulamu. 07JDG016.031 Then his brethren and all the house of his father came down, and took him, and brought him up, and buried him between Zorah and Eshtaol in the buryingplace of Manoah his father. And he judged Israel twenty years. %%% Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne baserengeta ne bamutwala, ne bamwambusa, ne bamuziika wakati w’e Zola ne Esutaoli mu kifo eky'okuziikangamu ekya Manowa kitaawe. Era yalamulira Isiraeri emyaka abiri. 07JDG017.001 And there was a man of mount Ephraim, whose name was Micah. %%% Awo waaliwo omusajja ow'omu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, erinnya lye Mikka. 07JDG017.002 And he said unto his mother, The eleven hundred shekels of silver that were taken from thee, about which thou cursedst, and spakest of also in mine ears, behold, the silver is with me; I took it. And his mother said, Blessed be thou of the LORD, my son. %%% N'agamba nnyina nti Ebitundu ebya ffeeza lukumi mu kikumi ebyakuggibwako, ebyakukolimya ekikolimo n'okwogera n'okyogera mu matu gange, laba, ffeeza eri nange; nze nagitwala: Nnyina n'ayogera nti Omwana wange aweebwe omukisa Mukama: 07JDG017.003 And when he had restored the eleven hundred shekels of silver to his mother, his mother said, I had wholly dedicated the silver unto the LORD from my hand for my son, to make a graven image and a molten image: now therefore I will restore it unto thee. %%% N'azza ebitundu biri ebya ffeeza lukumi mu kikumi eri nnyina, nnyina n'ayogera nti Mazima njawula ffeeza eno eri Mukama okuva mu mukono gwange olw'omwana wange, okukola ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: kale kaakano naagizza eri ggwe. 07JDG017.004 Yet he restored the money unto his mother; and his mother took two hundred shekels of silver, and gave them to the founder, who made thereof a graven image and a molten image: and they were in the house of Micah. %%% Awo bwe yazza ebintu eri nnyina, nnyina n'atwala ebitundu ebya ffeeza ebikumi bibiri, n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'abikoza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kibeera mu nnyumba ya Mikka. 07JDG017.005 And the man Micah had an house of gods, and made an ephod, and teraphim, and consecrated one of his sons, who became his priest. %%% Era omusajja oyo Mikka yalina ennyumba ya bakatonda, n'atunga ekkanzu, ne baterafi, n'ayawula omu ku batabani be, oyo n'afuuka kabona we. 07JDG017.006 In those days there was no king in Israel, but every man did that which was right in his own eyes. %%% Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi. 07JDG017.007 And there was a young man out of Bethlehemjudah of the family of Judah, who was a Levite, and he sojourned there. %%% Era waaliwo omuvubuka eyava mu Besirekemuyuda, ow'ekika kya Yuda, Omuleevi, n'abeera eyo. 07JDG017.008 And the man departed out of the city from Bethlehemjudah to sojourn where he could find a place: and he came to mount Ephraim to the house of Micah, as he journeyed. %%% Omusajja oyo n'ava mu kibuga, mu Besirekemuyuda, okubeera gy'anaayinza okulaba (ekifo): n'atuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi eri ennyumba ya Mikka, ng'atambula: 07JDG017.009 And Micah said unto him, Whence comest thou? And he said unto him, I am a Levite of Bethlehemjudah, and I go to sojourn where I may find a place. %%% Mikka n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Nze Muleevi ow'e Besirekemuyuda, era ŋŋenda okubeera gye nnaayinza okulaba (ekifo). 07JDG017.010 And Micah said unto him, Dwell with me, and be unto me a father and a priest, and I will give thee ten shekels of silver by the year, and a suit of apparel, and thy victuals. So the Levite went in. %%% Mikka n'amugamba nti Beera nange, obeere gye ndi kitange era kabona, nange naakuwanga ebitundu ebya ffeeza kkumi buli mwaka, n'ebyokwambala omuteeko gumu, n'ebyokulya. Awo Omuleevi n'ayingira. 07JDG017.011 And the Levite was content to dwell with the man; and the young man was unto him as one of his sons. %%% Omuleevi n'akkiriza okubeera n'omusajja oyo; omulenzi oyo n'abeera gy'ali ng'omu ku batabani be. 07JDG017.012 And Micah consecrated the Levite; and the young man became his priest, and was in the house of Micah. %%% Mikka: n'ayawula Omuleevi, omulenzi oyo n'afuuka kabona we, n'abeera mu nnyumba ya Mikka. 07JDG017.013 Then said Micah, Now know I that the LORD will do me good, seeing I have a Levite to my priest. %%% Mikka n'alyoka ayogera nti Kaakano mmanyi nga Mukama anankolanga bulungi, kubanga nnina Omuleevi okuba kabona wange. 07JDG018.001 In those days there was no king in Israel: and in those days the tribe of the Danites sought them an inheritance to dwell in; for unto that day all their inheritance had not fallen unto them among the tribes of Israel. %%% Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: ne mu nnaku ezo ekika ky'Abadaani beenoonyeza obusika obw'okutuulamu; kubanga okutuusa ku lunaku olwo obusika bwabwe baali nga tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri. 07JDG018.002 And the children of Dan sent of their family five men from their coasts, men of valour, from Zorah, and from Eshtaol, to spy out the land, and to search it; and they said unto them, Go, search the land: who when they came to mount Ephraim, to the house of Micah, they lodged there. %%% Awo abaana ba Ddaani ne batuma ab'omu kika kyabwe abasajja bataano ku muwendo gwabwe gwonna, abasajja abazira, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, okuketta ensi n'okugikebera; ne babagamba nti Mugende mukebere ensi: ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo. 07JDG018.003 When they were by the house of Micah, they knew the voice of the young man the Levite: and they turned in thither, and said unto him, Who brought thee hither? and what makest thou in this place? and what hast thou here? %%% Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bategeera eddoboozi ly'omuvubuka Omuleevi: ne bakyama okugenda eyo, ne bamugamba nti Ani eyakuleeta wano? era okola ki mu kifo kino? era kiki ky'olina wano? 07JDG018.004 And he said unto them, Thus and thus dealeth Micah with me, and hath hired me, and I am his priest. %%% N'abagamba nti Bw'atyo ne bw'atyo Mikka bwe yankola, n’ampeera, nange ne nfuuka kabona we. 07JDG018.005 And they said unto him, Ask counsel, we pray thee, of God, that we may know whether our way which we go shall be prosperous. %%% Ne bamugamba nti Tukwegayirira, buuza Katonda atulagule, tumanye oba ng'olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa. 07JDG018.006 And the priest said unto them, Go in peace: before the LORD is your way wherein ye go. %%% Kabona n'abagamba nti Mugende mirembe: olugendo lwammwe lwe mugenda luli mu maaso ga Mukama. 07JDG018.007 Then the five men departed, and came to Laish, and saw the people that were therein, how they dwelt careless, after the manner of the Zidonians, quiet and secure; and there was no magistrate in the land, that might put them to shame in any thing; and they were far from the Zidonians, and had no business with any man. %%% Awo abasajja abo abataano ne balyoka beegendera, ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu abali omwo, nga batuula mirembe, ng'engeri ey'Abasidoni bw'eri, nga basirise nga balina emirembe; kubanga tewaali muntu mu nsi nannyini buyinza eyandiyinzizza okubaswaza mu kigambo kyonna, era baabali wala Abasidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna. 07JDG018.008 And they came unto their brethren to Zorah and Eshtaol: and their brethren said unto them, What say ye? %%% Ne batuuka eri baganda baabwe e Zola ne Esutaoli: baganda baabwe ne babagamba nti Mwogera mutya? 07JDG018.009 And they said, Arise, that we may go up against them: for we have seen the land, and, behold, it is very good: and are ye still? be not slothful to go, and to enter to possess the land. %%% Ne boogera nti Mugolokoke twambuke okulwana nabo: kubanga tumaze okulaba ensi, era, laba, nnungi nnyo: nammwe musirise? temugayaala kugenda n'okuyingira okulya ensi. 07JDG018.010 When ye go, ye shall come unto a people secure, and to a large land: for God hath given it into your hands; a place where there is no want of any thing that is in the earth. %%% Bwe muligenda, mulisanga abantu abatamanyiridde, era ensi ngazi: kubanga Katonda agibawadde mu mukono gwammwe; ekifo ekitabulwamu kintu ekiri mu nsi. 07JDG018.011 And there went from thence of the family of the Danites, out of Zorah and out of Eshtaol, six hundred men appointed with weapons of war. %%% Ne wavaayo okugenda ab'omu kika ky'Abadaani, abaava mu Zola ne mu Esutaoli, abasajja lukaaga abeesiba ebyokulwanyisa. 07JDG018.012 And they went up, and pitched in Kirjathjearim, in Judah: wherefore they called that place Mahanehdan unto this day: behold, it is behind Kirjathjearim. %%% Ne bambuka, ne basiisira mu Kiriyasuyalimu mu Yuda: kyebava bayita ekifo ekyo Makanedani okutuusa leero: laba, kiri nnyuma w'e Kiriyasuyalimu. 07JDG018.013 And they passed thence unto mount Ephraim, and came unto the house of Micah. %%% Ne bavaayo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ne bajja ne batuuka ku nnyumba ya Mikka. 07JDG018.014 Then answered the five men that went to spy out the country of Laish, and said unto their brethren, Do ye know that there is in these houses an ephod, and teraphim, and a graven image, and a molten image? now therefore consider what ye have to do. %%% Awo abasajja bataano abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne baddamu ne bagamba baganda baabwe nti Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekyole, n'ekifaananyi ekisaanuuse? kale nno mulowooze ekibagwanira okukola. 07JDG018.015 And they turned thitherward, and came to the house of the young man the Levite, even unto the house of Micah, and saluted him. %%% Ne bakyamira eyo, ne bajja ne batuuka ku nnyumba y'omuvubuka Omuleevi, ye nnyumba ya Mikka, ne bamubuuza bw'ali. 07JDG018.016 And the six hundred men appointed with their weapons of war, which were of the children of Dan, stood by the entering of the gate. %%% N'abasajja bali olukumi abeesiba ebyokulwanyisa ab'oku baana ba Ddaani baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki. 07JDG018.017 And the five men that went to spy out the land went up, and came in thither, and took the graven image, and the ephod, and the teraphim, and the molten image: and the priest stood in the entering of the gate with the six hundred men that were appointed with weapons of war. %%% N'abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ne bambuka ne bayingira omwo, ne batwala ekifaananyi ekyole, n'ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kabona yali ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki wamu n'abasajja bali olukaaga abeesiba ebyokulwanyisa. 07JDG018.018 And these went into Micah's house, and fetched the carved image, the ephod, and the teraphim, and the molten image. Then said the priest unto them, What do ye? %%% Awo abo bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka ne baggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n'abagamba nti Mukola ki? 07JDG018.019 And they said unto him, Hold thy peace, lay thine hand upon thy mouth, and go with us, and be to us a father and a priest: is it better for thee to be a priest unto the house of one man, or that thou be a priest unto a tribe and a family in Israel? %%% Ne bamugamba nti Sirika, engalo zo oziteeke ku kamwa ko ogende naffe, obeere gye tuli kitaffe era kabona: kisinga obulungi ggwe okubeera kabona eri ennyumba y'omuntu omu, oba okuba kabona eri ekika n'ennyumba mu Isiraeri? 07JDG018.020 And the priest's heart was glad, and he took the ephod, and the teraphim, and the graven image, and went in the midst of the people. %%% Omutima gwa kabona ne gusanyuka, n'atwala ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda wakati mu bantu. 07JDG018.021 So they turned and departed, and put the little ones and the cattle and the carriage before them. %%% Awo ne bakyuka ne beegendera; ne bakulembeza abaana abato n'ensolo n'ebintu. 07JDG018.022 And when they were a good way from the house of Micah, the men that were in the houses near to Micah's house were gathered together, and overtook the children of Dan. %%% Bwe baali balese ennyuma walako ennyumba ya Mikka, abasajja abaali mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana, ne batuuka ku baana ba Ddaani. 07JDG018.023 And they cried unto the children of Dan. And they turned their faces, and said unto Micah, What aileth thee, that thou comest with such a company? %%% Ne bakoowoola abaana ba Ddaani. Ne bakyusa amaaso gaabwe ne bagamba Mikka nti Obadde otya okujja n'ekibiina ekyenkanidde wano? 07JDG018.024 And he said, Ye have taken away my gods which I made, and the priest, and ye are gone away: and what have I more? and what is this that ye say unto me, What aileth thee? %%% N'ayogera nti Munziyeeko bakatonda bange be nnakola ne kabona ne mwegendera, nange nnina ki nate? kale mumbuuza mutya nti Obadde otya? 07JDG018.025 And the children of Dan said unto him, Let not thy voice be heard among us, lest angry fellows run upon thee, and thou lose thy life, with the lives of thy household. %%% Abaana ba Ddaani ne bamugamba nti Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja ab'obusungu baleme okubagwako, naawe n'ofa n'ab'omu nnyumba yo. 07JDG018.026 And the children of Dan went their way: and when Micah saw that they were too strong for him, he turned and went back unto his house. %%% Abaana ba Ddaani ne beetambulira: awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye. 07JDG018.027 And they took the things which Micah had made, and the priest which he had, and came unto Laish, unto a people that were at quiet and secure: and they smote them with the edge of the sword, and burnt the city with fire. %%% Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze; ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise abatamanyiridde, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro. 07JDG018.028 And there was no deliverer, because it was far from Zidon, and they had no business with any man; and it was in the valley that lieth by Bethrehob. And they built a city, and dwelt therein. %%% So tewaabaawo mulokozi, kubanga kyali wala We Sidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna: era kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu. Ne bazimba ekibuga ne batuula omwo. 07JDG018.029 And they called the name of the city Dan, after the name of Dan their father, who was born unto Israel: howbeit the name of the city was Laish at the first. %%% Ne batuuma ekibuga erinnya lyakyo Ddaani, ng'erinnya lya Ddaani jjajjaabwe bwe lyali eyazaalirwa Isiraeri: naye erinnya ly'ekibuga lyali Layisi olubereberye. 07JDG018.030 And the children of Dan set up the graven image: and Jonathan, the son of Gershom, the son of Manasseh, he and his sons were priests to the tribe of Dan until the day of the captivity of the land. %%% Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole: ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye ne batabani be be baali bakabona eri ekika ky'Abadaani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako. 07JDG018.031 And they set them up Micah's graven image, which he made, all the time that the house of God was in Shiloh. %%% Awo ne beesimbira ekifaananyi kya Mikka ekyole kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro. 07JDG019.001 And it came to pass in those days, when there was no king in Israel, that there was a certain Levite sojourning on the side of mount Ephraim, who took to him a concubine out of Bethlehemjudah. %%% Awo olwatuuka mu nnaku ezo, nga tewali kabaka mu Isiraeri, ne wabaawo Omuleevi eyatuula emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi, eyaggya omuzaana mu Besirekemuyuda n'amuwasa. 07JDG019.002 And his concubine played the whore against him, and went away from him unto her father's house to Bethlehemjudah, and was there four whole months. %%% Omuzaana we n'amusobyako ng'ayenda, n'amunobako n'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Besirekemuyuda, n'amalayo ebbanga lya myezi ena. 07JDG019.003 And her husband arose, and went after her, to speak friendly unto her, and to bring her again, having his servant with him, and a couple of asses: and she brought him into her father's house: and when the father of the damsel saw him, he rejoiced to meet him. %%% Bba nagolokoka n'amugoberera okumubuulira eby'ekisa, okumukomyawo, ng'alina omuddu we, n'endogoyi bbiri: n'amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe: awo kitaawe w'omuwala bwe yamulaba, n'asanyuka okusisinkana naye. 07JDG019.004 And his father in law, the damsel's father, retained him; and he abode with him three days: so they did eat and drink, and lodged there. %%% Mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amulwisa; n'amalayo naye ennaku ssatu: bwe batyo ne balya ne banywa ne basula eyo. 07JDG019.005 And it came to pass on the fourth day, when they arose early in the morning, that he rose up to depart: and the damsel's father said unto his son in law, Comfort thine heart with a morsel of bread, and afterward go your way. %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'okuna ne bagolokoka enkya mu makya, naye n'agolokoka okugenda: kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti Sanyusa omutima gwo n'akamere mulyoke mugende. 07JDG019.006 And they sat down, and did eat and drink both of them together: for the damsel's father had said unto the man, Be content, I pray thee, and tarry all night, and let thine heart be merry. %%% Awo ne batuula, ne balya ne banywa; bombi wamu: kitaawe w'omuwala n'agamba omusajja nti Nkwegayiridde, kkiriza osulewo; omutima gwo gusanyuke. 07JDG019.007 And when the man rose up to depart, his father in law urged him: therefore he lodged there again. %%% Omusajja n'agolokoka okugenda; naye mukoddomi we n'amwegayirira, n'asulayo nate. 07JDG019.008 And he arose early in the morning on the fifth day to depart: and the damsel's father said, Comfort thine heart, I pray thee. And they tarried until afternoon, and they did eat both of them. %%% N'agolokoka enkya mu makya ku lunaku olw'okutaano okugenda; kitaawe w'omuwala n'ayogera nti Sanyusa omutima gwo, nkwegayiridde, mubeere wano, okutuusa obudde lwe bunaawungeera; ne balya bombi. 07JDG019.009 And when the man rose up to depart, he, and his concubine, and his servant, his father in law, the damsel's father, said unto him, Behold, now the day draweth toward evening, I pray you tarry all night: behold, the day groweth to an end, lodge here, that thine heart may be merry; and to morrow get you early on your way, that thou mayest go home. %%% Omusajja bwe yagolokoka okugenda, ye n'omuzaana we n'omuddu we, mukoddomi we kitaawe w'omuwala n'amugamba nti Laba, kaakano obudde bunaatera okuwungeera, mbeegayiridde musule: laba obudde bugenda buziba, beera weno, omutima gwo gusanyuke; enkya mukeere okutambula, oddeyo eka. 07JDG019.010 But the man would not tarry that night, but he rose up and departed, and came over against Jebus, which is Jerusalem; and there were with him two asses saddled, his concubine also was with him. %%% Naye omusajja n'atakkiriza kusulayo, naye n'agolokoka n'atambula, n'atuuka emitala w'e Yebusi ye Yerusaalemi: era ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko; era n'omuzaana we ng'ali naye. 07JDG019.011 And when they were by Jebus, the day was far spent; and the servant said unto his master, Come, I pray thee, and let us turn in into this city of the Jebusites, and lodge in it. %%% Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, obudde bwali buyitiridde nnyo; omuddu n'agamba mukama we nti Jjangu, nkwegayiridde, tukyame tuyingire mu kibuga kino eky'Abayebusi, tusule omwo. 07JDG019.012 And his master said unto him, We will not turn aside hither into the city of a stranger, that is not of the children of Israel; we will pass over to Gibeah. %%% Mukama we n'amugamba nti Tetuukyame kuyingira mu kibuga kya munnaggwanga, atali wa baana ba Isiraeri; naye tunaasomoka okugenda e Gibea. 07JDG019.013 And he said unto his servant, Come, and let us draw near to one of these places to lodge all night, in Gibeah, or in Ramah. %%% N'agamba omuddu we nti Jjangu tusemberere ekimu ku bibuga ebyo; era tunaasula mu Gibea oba mu Laama. 07JDG019.014 And they passed on and went their way; and the sun went down upon them when they were by Gibeah, which belongeth to Benjamin. %%% Awo ne batambula ne bagenda; obudde ne bubazibirira nga bali kumpi ne Gibea, ekya Benyamini. 07JDG019.015 And they turned aside thither, to go in and to lodge in Gibeah: and when he went in, he sat him down in a street of the city: for there was no man that took them into his house to lodging. %%% Ne bakyamira eyo, okuyingira okusula mu Gibea: n'ayingira n'atuula mu luguudo lw'ekibuga: kubanga tewaali muntu abayingiza mu nnyumba ye okubasuza. 07JDG019.016 And, behold, there came an old man from his work out of the field at even, which was also of mount Ephraim; and he sojourned in Gibeah: but the men of the place were Benjamites. %%% Awo, laba, omukadde n'ajja ng'ava mu mirimu gye mu nnimiro akawungeezi; era omusajja oyo yali wa nsi ya Efulayimu ey'ensozi, yali atuula mu Gibea: naye abasajja ab'ekifo baali Babenyamini. 07JDG019.017 And when he had lifted up his eyes, he saw a wayfaring man in the street of the city: and the old man said, Whither goest thou? and whence comest thou? %%% N'ayimusa amaaso ge, n'alaba omuyise oli mu luguudo lw'ekibuga; omukadde n'ayogera nti Ogenda wa? era ova wa? 07JDG019.018 And he said unto him, We are passing from Bethlehemjudah toward the side of mount Ephraim; from thence am I: and I went to Bethlehemjudah, but I am now going to the house of the LORD; and there is no man that receiveth me to house. %%% N'amugamba nti Tuva mu Besirekemuyuda nga tugenda emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi; gye nnava ne ŋŋenda e Besirekemuyuda: ne kaakano ŋŋenda mu nnyumba ya Mukama; so tewali muntu annyingiza mu nnyumba ye. 07JDG019.019 Yet there is both straw and provender for our asses; and there is bread and wine also for me, and for thy handmaid, and for the young man which is with thy servants: there is no want of any thing. %%% Naye waliwo ebisasiro era n'ebyokulya eby'endogoyi zaffe; era waliwo emmere yange n'omwenge n'eby’omuzaana wo, n'eby'omuvubuka ali awamu n'abaddu bo: tetuliiko kye twetaaga. 07JDG019.020 And the old man said, Peace be with thee; howsoever let all thy wants lie upon me; only lodge not in the street. %%% Omukadde n'ayogera nti Emirembe gibe gy'oli; naye byonna bye weetaaga bibeere ku nze: kyokka temusula mu luguudo. 07JDG019.021 So he brought him into his house, and gave provender unto the asses: and they washed their feet, and did eat and drink. %%% Awo n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'endogoyi n’aziwa ebyokulya: ne banaaba ebigere byabwe, ne balya ne banywa. 07JDG019.022 Now as they were making their hearts merry, behold, the men of the city, certain sons of Belial, beset the house round about, and beat at the door, and spake to the master of the house, the old man, saying, Bring forth the man that came into thine house, that we may know him. %%% Awo bwe baali nga beesanyusa emitima, laba, abasajja ab'omu kibuga, abaana ba Beriali, ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, nga bakoona ku luggi; ne boogera ne nannyini nnyumba, omukadde oli, nga bagamba nti Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo tulyoke tumumanye. 07JDG019.023 And the man, the master of the house, went out unto them, and said unto them, Nay, my brethren, nay, I pray you, do not so wickedly; seeing that this man is come into mine house, do not this folly. %%% Omusajja, nannyini nnyumba, n'abafulumira n'abagamba nti Nedda, baganda bange, mbeegayirira, temukola bubi obwenkanidde wano; kubanga omusajja ono ayingidde mu nnyumba yange, temukola kya busirusiru kino. 07JDG019.024 Behold, here is my daughter a maiden, and his concubine; them I will bring out now, and humble ye them, and do with them what seemeth good unto you: but unto this man do not so vile a thing. %%% Laba, muwala wange wuuno, atamanyanga musajja, n'omuzaana we; abo be nnaafulumya kaakano, nammwe mubatoowaze, mubakole nga bwe munaalaba nga kirungi: naye omusajja ono temumukola kya busirusiru kyonna ekiriŋŋanga ekyo: 07JDG019.025 But the men would not hearken to him: so the man took his concubine, and brought her forth unto them; and they knew her, and abused her all the night until the morning: and when the day began to spring, they let her go. %%% Naye abasajja ne bagaana okumuwulira: awo omusajja n'akwata omuzaana we; n'amufulumya gye bali; ne bamumanya, ne bamwonoona okukeesa obudde: awo emmambya bwe yasala, ne bamuta. 07JDG019.026 Then came the woman in the dawning of the day, and fell down at the door of the man's house where her lord was, till it was light. %%% Awo omukazi n'ajja obudde nga bukya, n'agwa ku luggi lw'ennyumba ey'omusajja omwali mukama we okutuusa obudde bwe bwakya. 07JDG019.027 And her lord rose up in the morning, and opened the doors of the house, and went out to go his way: and, behold, the woman his concubine was fallen down at the door of the house, and her hands were upon the threshold. %%% Awo mukama we n'agolokoka enkya, n'aggulawo enzigi z'ennyumba, n'afuluma okwegendera: era, laba, omukazi omuzaana we yali agudde ku luggi lw'ennyumba, engalo ze nga ziri ku mulyango. 07JDG019.028 And he said unto her, Up, and let us be going. But none answered. Then the man took her up upon an ass, and the man rose up, and gat him unto his place. %%% N'amugamba nti Golokoka tugende; naye nga tewali addamu: n'alyoka amutwalira ku ndogoyi; omusajja n'agolokoka n'agenda mu kifo kye. 07JDG019.029 And when he was come into his house, he took a knife, and laid hold on his concubine, and divided her, together with her bones, into twelve pieces, and sent her into all the coasts of Israel. %%% Awo bwe yatuuka mu nnyumba ye, n'addira akambe, n'akwata omuzaana we, n'amusalamu, ng'amagumba ge bwe gali, ebitundu kkumi na bibiri, n'anmuweereza okubunya ensalo zonna eza Isiraeri: 07JDG019.030 And it was so, that all that saw it said, There was no such deed done nor seen from the day that the children of Israel came up out of the land of Egypt unto this day: consider of it, take advice, and speak your minds. %%% Awo olwatuuka bonna abaalaba ekyo ne boogera nti Ekikolwa ekiriŋŋanga kino tekikolebwanga so tekirabwanga okuva ku lunaku abaana ba Isiraeri lwe baayambukirako okuva mu nsi y'e Misiri okutuusa leero: mukirowooze, mukiteese, mwogere: 07JDG020.001 Then all the children of Israel went out, and the congregation was gathered together as one man, from Dan even to Beersheba, with the land of Gilead, unto the LORD in Mizpeh. %%% Awo abaana ba Isiraeri bonna ne balyoka bafuluma, ekibiina ne kikuŋŋaana ng'omuntu omu, okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba, wamu n'ensi y'e Gireyaadi, eri Mukama e Mizupa. 07JDG020.002 And the chief of all the people, even of all the tribes of Israel, presented themselves in the assembly of the people of God, four hundred thousand footmen that drew sword. %%% Abakungu b'abantu bonna, ab'ebika byonna ebya Isiraeri, ne beeraga mu kkuŋŋaaniro ly'abantu ba Katonda, abasajja abatambula n'ebigere abaasowolanga ebitala obusiriivu buna. 07JDG020.003 (Now the children of Benjamin heard that the children of Israel were gone up to Mizpeh.) Then said the children of Israel, Tell us, how was this wickedness? %%% (Era abaana ba Benyamini baali bawulidde ng'abaana ba Isiraeri bayambuse e Mizupa.) Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tubuulire, obubi buno bwakolebwa butya? 07JDG020.004 And the Levite, the husband of the woman that was slain, answered and said, I came into Gibeah that belongeth to Benjamin, I and my concubine, to lodge. %%% Awo Omuleevi bba w'omukazi gwe batta, n'addamu n’ayogera nti Natuuka e Gibea, ekya Benyamini, nze n'omuzaana wange, okusulayo. 07JDG020.005 And the men of Gibeah rose against me, and beset the house round about upon me by night, and thought to have slain me: and my concubine have they forced, that she is dead. %%% Abasajja ab'e Gibea ne bangolokokerako, ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna mwe nnali ekiro; nze baali baagala okunzita, n'omuzaana wange baamukwata, era yafa. 07JDG020.006 And I took my concubine, and cut her in pieces, and sent her throughout all the country of the inheritance of Israel: for they have committed lewdness and folly in Israel. %%% Ne ntwala omuzaana wange, ne mmusalaasala ebitundu, ne mmuweereza okubunya ensi yonna ey'obusika bwa Isiraeri: kubanga baakola eky'obukaba era eky'obusirusiru mu Isiraeri. 07JDG020.007 Behold, ye are all children of Israel; give here your advice and counsel. %%% Mulabe, mmwe abaana ba Isiraeri, mwenna, muleete amagezi gammwe muteese. 07JDG020.008 And all the people arose as one man, saying, We will not any of us go to his tent, neither will we any of us turn into his house. %%% Abantu bonna ne bagolokoka ng'omuntu omu nga boogera nu Tewali muntu mu ffe aligenda mu weema ye, so tewali mu ffe alikyama okuyingira mu nnyumba ye. 07JDG020.009 But now this shall be the thing which we will do to Gibeah; we will go up by lot against it; %%% Naye kaakano ekigambo kye tulikola e Gibea kye kino; tulyambuka okulwana nakyo nga tukubye akalulu; 07JDG020.010 And we will take ten men of an hundred throughout all the tribes of Israel, and an hundred of a thousand, and a thousand out of ten thousand, to fetch victual for the people, that they may do, when they come to Gibeah of Benjamin, according to all the folly that they have wrought in Israel. %%% era tuliggya abasajja kkumi ku buli kyasa okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, era kikumi ku buli lukumi, era lukumi ku buli kakumi, okusakira abantu emmere, bwe balituuka e Gibea ekya Benyamini balyoke bakole ng'obusirusiru bwonna bwe buli bwe baakolera mu Isiraeri. 07JDG020.011 So all the men of Israel were gathered against the city, knit together as one man. %%% Awo, abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira ku kibuga, nga beegaasse ng'omuntu omu. 07JDG020.012 And the tribes of Israel sent men through all the tribe of Benjamin, saying, What wickedness is this that is done among you? %%% Awo ebika bya Isiraeri ne batuma abantu okubunya ekika kyonna ekya Benyamini nga boogera nti Bubi ki obwo obwakolebwa mu mmwe? 07JDG020.013 Now therefore deliver us the men, the children of Belial, which are in Gibeah, that we may put them to death, and put away evil from Israel. But the children of Benjamin would not hearken to the voice of their brethren the children of Israel: %%% Kale kaakano muweeyo abasajja, abaana aba Beriali; abaali mu Gibea; tulyoke tubatte, tuggyemu obubi mu Isiraeri. Naye Benyamini n'agaana okuwulira eddoboozi lya baganda baabwe abaana ba Isiraeri. 07JDG020.014 But the children of Benjamin gathered themselves together out of the cities unto Gibeah, to go out to battle against the children of Israel. %%% Awo abaana ba Benyamini ne bava mu bibuga ne bakuŋŋanira e Gibea, okugenda okutabaala abaana ba Isiraeri. %%% And the children of Benjamin were numbered at that time out of the cities twenty and six thousand men that drew sword, beside the inhabitants of Gibeah, which were numbered seven hundred chosen men. 07JDG020.015 Abaana ba Benyamini ne bababala ku lunaku olwo abaava mu bibuga abassajja abaasowolanga ebitala obukumi bubiri mu kakaaga, obutassaako abo abaatuula mu Gibea be baabala abasajja abalonde lusanvu. 07JDG020.016 Among all this people there were seven hundred chosen men lefthanded; every one could sling stones at an hair breadth, and not miss. %%% Mu bantu bano bonna mwalimu abasajja abalonde aba kkono lusanvu; buli omu yayinza okuvuumuulira amayinja oluviiri, n’atasubwa: 07JDG020.017 And the men of Israel, beside Benjamin, were numbered four hundred thousand men that drew sword: all these were men of war. %%% Abasajja ba Isiraeri, obutassaako Benyamini, baababala abasajja abaasowolanga ebitala obusiriivu buna: abo bonna nga bazira. 07JDG020.018 And the children of Israel arose, and went up to the house of God, and asked counsel of God, and said, Which of us shall go up first to the battle against the children of Benjamin? And the LORD said, Judah shall go up first. %%% Abaana ba Isiraeri ne bagolokoka, ne bayambuka e Beseri, ne babuuza Katonda abalagule; ne bagamba nti Ani alisooka okutwambukira okulwana: n'abaana ba Benyamini? Mukama n'ayogera nti Yuda ye alisooka. 07JDG020.019 And the children of Israel rose up in the morning, and encamped against Gibeah. %%% Abaana ba Isiraeri ne bagolokoka enkya, ne basiisira ku Gibea. 07JDG020.020 And the men of Israel went out to battle against Benjamin; and the men of Israel put themselves in array to fight against them at Gibeah. %%% Abasajja ba Isiraeri ne bafuluma okulwana ne Benyamini; abasajja ba Isiraeri ne basimba ennyiriri okulwanira nabo e Gibea. 07JDG020.021 And the children of Benjamin came forth out of Gibeah, and destroyed down to the ground of the Israelites that day twenty and two thousand men. %%% Awo abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne bamegga wansi ne bazikiriza ku lunaku olwo abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri ku Baisiraeri. 07JDG020.022 And the people the men of Israel encouraged themselves, and set their battle again in array in the place where they put themselves in array the first day. %%% Awo abantu, abasajja ba Isiraeri, ne beegumya emyoyo, ne basimba ennyiriri nate mu kifo mwe baali bazisimbidde ku lunaku olw'olubereberye: 07JDG020.023 (And the children of Israel went up and wept before the LORD until even, and asked counsel of the LORD, saying, Shall I go up again to battle against the children of Benjamin my brother? And the LORD said, Go up against him.) %%% (Era abaana ba Isiraeri ne balinnya ne bakaabira amaziga mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi; ne babuuza Mukama nga boogera nti Naasembera nate okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange? Mukama n'ayogera nti Yambuka okulwana naye.) 07JDG020.024 And the children of Israel came near against the children of Benjamin the second day. %%% Awo abaana ba Isiraeri ne basembera okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olw'okubiri. 07JDG020.025 And Benjamin went forth against them out of Gibeah the second day, and destroyed down to the ground of the children of Israel again eighteen thousand men; all these drew the sword. %%% Benyamini n'ava mu Gibea ku lunaku olw'okubiri okulwana nabo, ne bamegga wansi ne bazikiriza nate abasajja kakumi mu kanaana ku Isiraeri; abo bonna baasowolanga ebitala. 07JDG020.026 Then all the children of Israel, and all the people, went up, and came unto the house of God, and wept, and sat there before the LORD, and fasted that day until even, and offered burnt offerings and peace offerings before the LORD. %%% Awo abaana ba Isiraeri bonna n'abantu bonna ne balyoka balinnya ne batuuka e Beseri, ne bakaaba amaziga, ne batuula eyo mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo okutuusa akawungeezi; ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama: 07JDG020.027 And the children of Israel enquired of the LORD, (for the ark of the covenant of God was there in those days, %%% Abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama, (kubanga ssanduuko ey'endagaano ya Katonda yaliyo mu nnaku ezo, 07JDG020.028 And Phinehas, the son of Eleazar, the son of Aaron, stood before it in those days,) saying, Shall I yet again go out to battle against the children of Benjamin my brother, or shall I cease? And the LORD said, Go up; for to morrow I will deliver them into thine hand. %%% ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni yayimiriranga mu maaso gaayo mu nnaku ezo) nga boogera nti Naafuluma nate omulundi ogw'okusatu okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange nantiki naalekera awo? Mukama n'ayogera nti Yambuka, kubanga enkya naamugabula mu mukono gwo. 07JDG020.029 And Israel set liers in wait round about Gibeah. %%% Awo Isiraeri n'assaawo abateezi okuteega Gibea enjuyi zonna. 07JDG020.030 And the children of Israel went up against the children of Benjamin on the third day, and put themselves in array against Gibeah, as at other times. %%% Awo abaana ba Isiraeri ne bambuka okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olw'okusatu, ne basimba ennyiriri zaabwe nga boolekera Gibea ng'olulala. 07JDG020.031 And the children of Benjamin went out against the people, and were drawn away from the city; and they began to smite of the people, and kill, as at other times, in the highways, of which one goeth up to the house of God, and the other to Gibeah in the field, about thirty men of Israel. %%% Abaana ba Benyamini ne bafuluma okulwana n'abantu, ne basendebwasendebwa okuva ku kibuga; ne batanula okukuba n'okutta ku bantu ng'olulala, mu nguudo, olumu lwe lwambuka e Beseri, n'olulala e Gibea, ne mu nnimiro, abasajja ba Isiraeri ng'asatu. 07JDG020.032 And the children of Benjamin said, They are smitten down before us, as at the first. But the children of Israel said, Let us flee, and draw them from the city unto the highways. %%% Abaana ba Benyamini ne boogera nti Bameggeddwa mu maaso gaffe ng'olubereberye. Naye abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tudduke, tubasendesende okuva ku kibuga bagende mu nguudo. 07JDG020.033 And all the men of Israel rose up out of their place, and put themselves in array at Baaltamar: and the liers in wait of Israel came forth out of their places, even out of the meadows of Gibeah. %%% Abasajja ba Isiraeri bonna ne bagolokoka ne bava mu kifo kyabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe mu Baalutamali: n'abateezi ba Isiraeri ne bafubutuka okuva mu kifo kyabwe, okuva mu Maalegeba. 07JDG020.034 And there came against Gibeah ten thousand chosen men out of all Israel, and the battle was sore: but they knew not that evil was near them. %%% Ne wayita okulwana ne Gibea abasajja abaalondebwa mu Isiraeri yenna, kakumi, ne balwana nnyo: naye baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi. 07JDG020.035 And the LORD smote Benjamin before Israel: and the children of Israel destroyed of the Benjamites that day twenty and five thousand and an hundred men: all these drew the sword. %%% Mukama n'akuba Benyamini mu msaso ga Isiraeri: abaana ba Isiraeri ku lunaku olwo ne bazikiriza ku Benyamini abasajja obukumi bubiri mu enkumi ttaano mu kikumi: abo bonna baasowolanga ebitala. 07JDG020.036 So the children of Benjamin saw that they were smitten: for the men of Israel gave place to the Benjamites, because they trusted unto the liers in wait which they had set beside Gibeah. %%% Awo abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa: kubanga abasajja ba Isiraeri baasegulira Benyamini, kubanga baali beesize abateezi be baali bateezezza e Gibea. 07JDG020.037 And the liers in wait hasted, and rushed upon Gibeah; and the liers in wait drew themselves along, and smote all the city with the edge of the sword. %%% Awo abateezi ne banguwa ne bafubutuka ku Gibea; abateezi ne basembera enjuyi zonna, ne batta ekibuga kyonna n'obwogi bw'ekitala. 07JDG020.038 Now there was an appointed sign between the men of Israel and the liers in wait, that they should make a great flame with smoke rise up out of the city. %%% Era akabonero abasajja ba Isiraeri n'abateezi ke baali balagaanye ke kano, bo akunyoosa ekire ekinene eky'omukka okuva mu kibuga. 07JDG020.039 And when the men of Israel retired in the battle, Benjamin began to smite and kill of the men of Israel about thirty persons: for they said, Surely they are smitten down before us, as in the first battle. %%% Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka mu lutalo, ne Benyamini n'atanula okukuba n'okutta ku basajja ba Isiraeri abasajja ng'asatu: kubanga baayogera nti Mazima bameggeddwa mu maaso gaffe nga mu lutabaalo olw'olubereberye. 07JDG020.040 But when the flame began to arise up out of the city with a pillar of smoke, the Benjamites looked behind them, and, behold, the flame of the city ascended up to heaven. %%% Naye ekire bwe kyasooka okunyooka okuva mu kibuga ng'empagi y'omukka, Ababenyamini ne batunula ennyuma, era, laba, ekibuga kyonna nga kinyooka akutuusa mu ggulu. 07JDG020.041 And when the men of Israel turned again, the men of Benjamin were amazed: for they saw that evil was come upon them. %%% Awo abasajja ba Isiraeri ne bakyuka, abasajja ba Benyamini ne bawuniikirira: kubanga baalaba ng'akabi kabatuuseeko. 07JDG020.042 Therefore they turned their backs before the men of Israel unto the way of the wilderness; but the battle overtook them; and them which came out of the cities they destroyed in the midst of them. %%% Awo ne bakuba amabega mu maaso g'abasajja ba Isiraeri okugenda mu kkubo eridda mu ddungu; naye olutalo ne lubagoberera kumpi; nabo abaava mu bibuga ne babazikiriza wakati mu byo. 07JDG020.043 Thus they inclosed the Benjamites round about, and chased them, and trode them down with ease over against Gibeah toward the sunrising. %%% Ne bazingiza Ababenyamini enjuyi zonna, ne babayigganya, ne babalinnyirira mu bisulo byabwe, okutuusa emitala w'e Gibea ku luuyi lw'ebuvanjuba. 07JDG020.044 And there fell of Benjamin eighteen thousand men; all these were men of valour. %%% Ne wagwa ku Benyamini abasajja kakumi mu kanaana; abo bonna basajja bazira. 07JDG020.045 And they turned and fled toward the wilderness unto the rock of Rimmon: and they gleaned of them in the highways five thousand men; and pursued hard after them unto Gidom, and slew two thousand men of them. %%% Ne bakyuka ne badduka mu kkubo ly'eddungu okutuuka ku jjinja lya Limoni: ne bafuuza abaali badduse mu nguudo abasajja enkumi ttaano; ne babayigganya okutuuka e Gidomu, ne babattako abasajja enkumi bbiri. 07JDG020.046 So that all which fell that day of Benjamin were twenty and five thousand men that drew the sword; all these were men of valour. %%% Bwe batyo bonna abaagwa ku lunaku olwo ku Benyamini baali abasajja obukumi bubiri mu enkumi ttaano abaasowolanga ebitala; abo bonna basajja bazira: 07JDG020.047 But six hundred men turned and fled to the wilderness unto the rock Rimmon, and abode in the rock Rimmon four months. %%% Naye abasajja lukaaga ne bakyuka ne baddukira mu kkubo ly'eddungu ne batuuka ku jjinja lya Limoni, ne babeera mu jjinja lya Limoni okumalayo emyezi ena. 07JDG020.048 And the men of Israel turned again upon the children of Benjamin, and smote them with the edge of the sword, as well the men of every city, as the beast, and all that came to hand: also they set on fire all the cities that they came to. %%% Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka nate okulwana n'abaana ba Benyamini, ne babatta n'obwogi bw'ekitala, ekibuga kyonna era n'ente ne byonna bye baasanga: era n'ebibuga byonna bye baasanga ne babyokya. 07JDG021.001 Now the men of Israel had sworn in Mizpeh, saying, There shall not any of us give his daughter unto Benjamin to wife. %%% Era abasajja ba Isiraeri baali balayidde mu Mizupa nga boogera nti Tewabanga ku ffe alimuwa Benyamini omuwala we okumuwasa. 07JDG021.002 And the people came to the house of God, and abode there till even before God, and lifted up their voices, and wept sore; %%% Abantu ne bajja e Beseri, ne batuula eyo okutuusa akawungeezi mu maaso ga Katonda, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba nnyo amaziga. 07JDG021.003 And said, O LORD God of Israel, why is this come to pass in Israel, that there should be to day one tribe lacking in Israel? %%% Ne boogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, kiki ekireese kino mu Isiraeri, leero ekika kimu okubula mu Isiraeri? 07JDG021.004 And it came to pass on the morrow, that the people rose early, and built there an altar, and offered burnt offerings and peace offerings. %%% Awo olwatuuka enkya abantu ne bagolokoka mu makya, ne bazimba eyo ekyoto, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. 07JDG021.005 And the children of Israel said, Who is there among all the tribes of Israel that came not up with the congregation unto the LORD? For they had made a great oath concerning him that came not up to the LORD to Mizpeh, saying, He shall surely be put to death. %%% Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Aluwa mu bika byonna ebya Isiraeri atayambuka eri ekkuŋŋaaniro eri Mukama? Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo atayambuka eri Mukama e Mizupa nga boogera nti Talirema kuttibwa: 07JDG021.006 And the children of Israel repented them for Benjamin their brother, and said, There is one tribe cut off from Israel this day. %%% Abaana ba Isiraeri ne bejjusa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri. 07JDG021.007 How shall we do for wives for them that remain, seeing we have sworn by the LORD that we will not give them of our daughters to wives? %%% Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa? 07JDG021.008 And they said, What one is there of the tribes of Israel that came not up to Mizpeh to the LORD? And, behold, there came none to the camp from Jabeshgilead to the assembly. %%% Ne boogera nti Kika ki ku bika bya Isiraeri ekitayambuka eri Mukama e Mizupa? Era, laba, mu Yabesugireyaadi temwava muntu okugenda mu lusiisira eri ekkuŋŋaaniro. 07JDG021.009 For the people were numbered, and, behold, there were none of the inhabitants of Jabeshgilead there. %%% Kubanga abantu bwe baabalibwa, laba, nga tewaliiwo ku abo abaatuula mu Yabesugireyaadi. 07JDG021.010 And the congregation sent thither twelve thousand men of the valiantest, and commanded them, saying, Go and smite the inhabitants of Jabeshgilead with the edge of the sword, with the women and the children. %%% Ekibiina ne kitumayo abasajja kakumi mu enkumi bbiri ku abo abasinga obuzira, ne babalagira nga boogera nti Mugende mutte n'obwogi bw'ekitala abatuula mu Yabesugireyaadi, wamu n'abakazi n'abaana abato. 07JDG021.011 And this is the thing that ye shall do, Ye shall utterly destroy every male, and every woman that hath lain by man. %%% Na kino kye kigambo kye munaakola; munaazikiririza ddala buli musajja na buli mukazi eyali asuze n'omusajja. 07JDG021.012 And they found among the inhabitants of Jabeshgilead four hundred young virgins, that had known no man by lying with any male: and they brought them unto the camp to Shiloh, which is in the land of Canaan. %%% Ne balaba mu abo abatuula mu Yabesugireyaadi abawala abato bina; abatamanyanga musajja okusula naye: ne babaleeta mu lusiisira e Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani. 07JDG021.013 And the whole congregation sent some to speak to the children of Benjamin that were in the rock Rimmon, and to call peaceably unto them. %%% Awo ekibiina kyonna ne batuma ne boogera n'abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni, ne babalangira emirembe. 07JDG021.014 And Benjamin came again at that time; and they gave them wives which they had saved alive of the women of Jabeshgilead: and yet so they sufficed them not. %%% Awo Benyamini n'akomawo mu biro ebyo; ne babawa abakazi be baali bawonyezza okubatta ku bakazi ab'e Yabesugireyaadi: era naye ne batabamala bwe batyo. 07JDG021.015 And the people repented them for Benjamin, because that the LORD had made a breach in the tribes of Israel. %%% Abantu ne bejjusa olwa Benyamini, kubanga Mukama yali awagudde ekituli mu bika bya Isiraeri: 07JDG021.016 Then the elders of the congregation said, How shall we do for wives for them that remain, seeing the women are destroyed out of Benjamin? %%% Awo abakadde b'ekibiina ne boogera nti Tulirabira tutya abakazi abo abasigaddewo; kubanga abakazi bazikirizibbwa mu Benyamini? 07JDG021.017 And they said, There must be an inheritance for them that be escaped of Benjamin, that a tribe be not destroyed out of Israel. %%% Ne boogera nti Kigwana okubaawo obusika eri abo abaawona ku Benyamini, ekika kireme okusangulibwa mu Isiraeri. 07JDG021.018 Howbeit we may not give them wives of our daughters: for the children of Israel have sworn, saying, Cursed be he that giveth a wife to Benjamin. %%% Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa: kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa. 07JDG021.019 Then they said, Behold, there is a feast of the LORD in Shiloh yearly in a place which is on the north side of Bethel, on the east side of the highway that goeth up from Bethel to Shechem, and on the south of Lebonah. %%% Ne boogera nti Laba, waliwo embaga ya Mukama buli mwaka mu Siiro, ekiri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Beseri, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'oluguudo oluva e Beseri olwambuka e Sekemu; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Lebona. 07JDG021.020 Therefore they commanded the children of Benjamin, saying, Go and lie in wait in the vineyards; %%% Awo ne balagira abaana ba Benyamini nga boogera nti Mugende muteegere mu nsuku z'emizabbibu; 07JDG021.021 And see, and, behold, if the daughters of Shiloh come out to dance in dances, then come ye out of the vineyards, and catch you every man his wife of the daughters of Shiloh, and go to the land of Benjamin. %%% mutunule, era, laba, abawala ab'e Siiro bwe balifuluma okuzina mu mizannyo gyaffe, ne mulyoka muva mu nsuku, mukwate buli muntu mukazi we ku bawala ab'e Siiro, mugende mu nsi ya Benyamini. 07JDG021.022 And it shall be, when their fathers or their brethren come unto us to complain, that we will say unto them, Be favourable unto them for our sakes: because we reserved not to each man his wife in the war: for ye did not give unto them at this time, that ye should be guilty. %%% Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okutuwoleza, ne tubagamba nti Mubatuwe lwa kisa: kubanga tetwabanyagira buli muntu mukazi we mu ntalo: so temwababawa; kaakano mwandizzizza omusango. 07JDG021.023 And the children of Benjamin did so, and took them wives, according to their number, of them that danced, whom they caught: and they went and returned unto their inheritance, and repaired the cities, and dwelt in them. %%% Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku abo abaazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali abo be baanyaga: ne baddayo mu busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo. 07JDG021.024 And the children of Israel departed thence at that time, every man to his tribe and to his family, and they went out from thence every man to his inheritance. %%% Awo abaana ba Isiraeri ne bavaayo mu biro ebyo, buli muntu eri ekika kye n'eri ennyumba ye, ne bavaayo ne bagenda buli muntu mu busika bwe. 07JDG021.025 In those days there was no king in Israel: every man did that which was right in his own eyes. %%% Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi. 08RUT001.001 Now it came to pass in the days when the judges ruled, that there was a famine in the land. And a certain man of Bethlehemjudah went to sojourn in the country of Moab, he, and his wife, and his two sons. %%% Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'agenda okutuula mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi. 08RUT001.002 And the name of the man was Elimelech, and the name of his wife Naomi, and the name of his two sons Mahlon and Chilion, Ephrathites of Bethlehemjudah. And they came into the country of Moab, and continued there. %%% N'erinnya ly'omusajja lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we Nawomi, n'erinnya lya batabani be bombi Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo. 08RUT001.003 And Elimelech Naomi's husband died; and she was left, and her two sons. %%% Awo Erimereki bba Nawomi n'afa; naye n'asigalawo ne batabani be bombi. 08RUT001.004 And they took them wives of the women of Moab; the name of the one was Orpah, and the name of the other Ruth: and they dwelled there about ten years. %%% Ne bawasa ku bakazi ba Mowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'ow'okubiri Luusi: ne bamalayo emyaka nga kkumi. 08RUT001.005 And Mahlon and Chilion died also both of them; and the woman was left of her two sons and her husband. %%% Awo Maloni ne Kiriyoni ne bafa bombi; omukazi n'afiirwa abaana be bombi ne bba. 08RUT001.006 Then she arose with her daughters in law, that she might return from the country of Moab: for she had heard in the country of Moab how that the LORD had visited his people in giving them bread. %%% Awo n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo ng'ava mu nsi ya Mowaabu: kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yajjira abantu be ng'abawa emmere. 08RUT001.007 Wherefore she went forth out of the place where she was, and her two daughters in law with her; and they went on the way to return unto the land of Judah. %%% N'ava mu kifo mwe yali, ne baka baaaa be bombi wamu naye; ne batambula mu kkubo okuddayo mu nsi ya Yuda. 08RUT001.008 And Naomi said unto her two daughters in law, Go, return each to her mother's house: the LORD deal kindly with you, as ye have dealt with the dead, and with me. %%% Awo Nawomi n'agamba baka baana be bombi nti Mugende muddeyo buli omu ku mmwe mu nnyumba ya nnyina: Mukama abakole eby'ekisa, nga mmwe bwe mwakola abaafa era nange. 08RUT001.009 The LORD grant you that ye may find rest, each of you in the house of her husband. Then she kissed them; and they lifted up their voice, and wept. %%% Mukama abawe okulaba okuwummula, buli omu ku mmwe mu nnyumba ya bba. N'alyoka abanywegera; ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga. 08RUT001.010 And they said unto her, Surely we will return with thee unto thy people. %%% Ne bamugamba nti Nedda; naye tuliddayo naawe eri abantu bo. 08RUT001.011 And Naomi said, Turn again, my daughters: why will ye go with me? are there yet any more sons in my womb, that they may be your husbands? %%% Nawomi n'agamba nti Mukyuke nate, baana bange: kiki ekibaagaza okugenda nange? nkyalina abaana mu lubuto lwange babeere babbammwe? 08RUT001.012 Turn again, my daughters, go your way; for I am too old to have an husband. If I should say, I have hope, if I should have an husband also to night, and should also bear sons; %%% Mukyuke nate, baana bange, mweddireyo; kubanga nkaddiye mpitiridde okuba n'omusajja. Bwe nnaayogera nti Nsuubira, newakubadde nga mbeera n'omusajja ekiro kino, era ne nzaala abaana ab'obulenzi; 08RUT001.013 Would ye tarry for them till they were grown? would ye stay for them from having husbands? nay, my daughters; for it grieveth me much for your sakes that the hand of the LORD is gone out against me. %%% kale mwandibalindiridde okukula? kyemuliva muleka okuba n'abasajja? nedda, baana bange; kubanga nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga omukono gwa Mukama gwafuluma okulwana nange. 08RUT001.014 And they lifted up their voice, and wept again: and Orpah kissed her mother in law; but Ruth clave unto her. %%% Ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nate amaziga: Olupa n'anywegera nnyazaala we; naye Luusi ne yeegata naye. 08RUT001.015 And she said, Behold, thy sister in law is gone back unto her people, and unto her gods: return thou after thy sister in law. %%% N'ayogera nti Laba, muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katonda we: naawe ddayo ogoberere muggya wo. 08RUT001.016 And Ruth said, Intreat me not to leave thee, or to return from following after thee: for whither thou goest, I will go; and where thou lodgest, I will lodge: thy people shall be my people, and thy God my God: %%% Awo Luusi n'ayogera nti Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera: kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange: 08RUT001.017 Where thou diest, will I die, and there will I be buried: the LORD do so to me, and more also, if ought but death part thee and me. %%% gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinzika: Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa. 08RUT001.018 When she saw that she was stedfastly minded to go with her, then she left speaking unto her. %%% Awo bwe yalaba ng'amaliridde okugenda naye, n'aleka okwogera naye. 08RUT001.019 So they two went until they came to Bethlehem. And it came to pass, when they were come to Bethlehem, that all the city was moved about them, and they said, Is this Naomi? %%% Awo abo bombi ne batambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu. Awo olwatuuka bwe baamala okutuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, abakazi ne boogera nti Ono Nawomi? 08RUT001.020 And she said unto them, Call me not Naomi, call me Mara: for the Almighty hath dealt very bitterly with me. %%% N'abagamba nti Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala: kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo. 08RUT001.021 I went out full, and the LORD hath brought me home again empty: why then call ye me Naomi, seeing the LORD hath testified against me, and the Almighty hath afflicted me? %%% Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu: kiki ekibampisa Nawomi, kubanga Mukama yategeeza ku nze, era Omuyinza w'ebintu byonna yambonyaabonya? 08RUT001.022 So Naomi returned, and Ruth the Moabitess, her daughter in law, with her, which returned out of the country of Moab: and they came to Bethlehem in the beginning of barley harvest. %%% Bwe batyo Nawomi n'akomawo, ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, wamu naye, eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu: ne batuuka e Besirekemu nga kyebajje bakungule sayiri. 08RUT002.001 And Naomi had a kinsman of her husband's, a mighty man of wealth, of the family of Elimelech; and his name was Boaz. %%% Era Nawomi yalina muganda wa bba, omusajja ow'amaanyi omugagga, ow'omu nnyumba ya Erimereki; n'erinnya lye Bowaazi. 08RUT002.002 And Ruth the Moabitess said unto Naomi, Let me now go to the field, and glean ears of corn after him in whose sight I shall find grace. And she said unto her, Go, my daughter. %%% Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa. N'amugamba nti Genda, mwana wange. 08RUT002.003 And she went, and came, and gleaned in the field after the reapers: and her hap was to light on a part of the field belonging unto Boaz, who was of the kindred of Elimelech. %%% N'agenda, n'ajja n'alonda mu nnimiro abakunguzi we bayise: era olwatuuka n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi, eyali ow'omu kika kya Erimereki. 08RUT002.004 And, behold, Boaz came from Bethlehem, and said unto the reapers, The LORD be with you. And they answered him, The LORD bless thee. %%% Era, laba, Bowaazi n'ava e Besirekemu n'agamba abakunguzi nti Mukama abeere nammwe. Ne bamuddamu nti Mukama akuwe omukisa. 08RUT002.005 Then said Boaz unto his servant that was set over the reapers, Whose damsel is this? %%% Awo Bowaazi n'agamba omuddu we eyali akunguza abakunguzi nti Omuwala ono w'ani? 08RUT002.006 And the servant that was set over the reapers answered and said, It is the Moabitish damsel that came back with Naomi out of the country of Moab: %%% Omuddu eyali akunguza abakunguzi n'addamu n'ayogera nti Ono ye muwala Omumowaabu eyakomawo ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu: 08RUT002.007 And she said, I pray you, let me glean and gather after the reapers among the sheaves: so she came, and hath continued even from the morning until now, that she tarried a little in the house. %%% n'ayogera nti Nnonde, mbeegayiridde, nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa: awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nnyumba katono. 08RUT002.008 Then said Boaz unto Ruth, Hearest thou not, my daughter? Go not to glean in another field, neither go from hence, but abide here fast by my maidens: %%% Awo Bowaazi n'alyoka agamba Luusi nti Towulira mwana wange? Togendanga kulonda mu nnimiro endala, so tovanga wano, naye obeeranga wano kumpi; n'abawala bange. 08RUT002.009 Let thine eyes be on the field that they do reap, and go thou after them: have I not charged the young men that they shall not touch thee? and when thou art athirst, go unto the vessels, and drink of that which the young men have drawn. %%% Amaaso go gabe ku nnimiro, gye banaakungulanga, naawe obagobererenga: sikuutidde balenzi obutakukomangako era ennyonta bw'eneekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku ago abalenzi ge basenye. 08RUT002.010 Then she fell on her face, and bowed herself to the ground, and said unto him, Why have I found grace in thine eyes, that thou shouldest take knowledge of me, seeing I am a stranger? %%% Awo n'avuunama amaaso ge, n'akutama, n'amugamba nti Kiki ekindabizza ekisa mu maaso go, ggwe okunnekkaanya nze kubanga ndi munnaggwanga? 08RUT002.011 And Boaz answered and said unto her, It hath fully been shewed me, all that thou hast done unto thy mother in law since the death of thine husband: and how thou hast left thy father and thy mother, and the land of thy nativity, and art come unto a people which thou knewest not heretofore. %%% Bowaazi n'addamu n'amugamba nti Bambuulirira ddala byonna bye waakakoze nnyazaala wo balo kasooka afa: era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko. 08RUT002.012 The LORD recompense thy work, and a full reward be given thee of the LORD God of Israel, under whose wings thou art come to trust. %%% Mukama akusasulire emirimu gyo, era oweebwe empeera etebulako Mukama Katonda wa Isiraeri, gwe weeyuna wansi w'ebiwawaatiro bye. 08RUT002.013 Then she said, Let me find favour in thy sight, my lord; for that thou hast comforted me, and for that thou hast spoken friendly unto thine handmaid, though I be not like unto one of thine handmaidens. %%% Awo n'ayogera nti Ndabe ekisa mu maaso go, mukama wange; kubanga onsanyusizza, era kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa, newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo. 08RUT002.014 And Boaz said unto her, At mealtime come thou hither, and eat of the bread, and dip thy morsel in the vinegar. And she sat beside the reapers: and he reached her parched corn, and she did eat, and was sufficed, and left. %%% Awo obudde bwe bwatuuka okulya Bowaazi n'amugamba nti Jjangu olye ku mmere okoze ennoga yo omwenge omukaatuufu. N'atuula ku mabbali g'abakunguzi: ne bamuwa sayiri ensiike, n'alya n'akkuta n'alemwa. 08RUT002.015 And when she was risen up to glean, Boaz commanded his young men, saying, Let her glean even among the sheaves, and reproach her not: %%% Awo bwe yagolokoka okulonda, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti Alonde ne mu binywa so temumuvumanga. 08RUT002.016 And let fall also some of the handfuls of purpose for her, and leave them, that she may glean them, and rebuke her not. %%% Era mumutoolereko ne mu miganda, mugireke, alonde so temumuwuunako. 08RUT002.017 So she gleaned in the field until even, and beat out that she had gleaned: and it was about an ephah of barley. %%% Awo n'alonda mu nnimiro n'azibya obudde: n'awuula ze yali alonze, ne ziba nga efa eya sayiri. 08RUT002.018 And she took it up, and went into the city: and her mother in law saw what she had gleaned: and she brought forth, and gave to her that she had reserved after she was sufficed. %%% N'agyetikka, n'ayingira mu kibuga: nnyazaala we n'alaba z'alonze: n'aleeta n'amuwa eyasigaddewo bwe yamala okukkuta. 08RUT002.019 And her mother in law said unto her, Where hast thou gleaned to day? and where wroughtest thou? blessed be he that did take knowledge of thee. And she shewed her mother in law with whom she had wrought, and said, The man's name with whom I wrought to day is Boaz. %%% Awo nnyazaala we n'amugamba nti Olonze wa leero? era okoze wa emirimu? aweebwe omukisa oyo akwekkaanyizza. N'ategeeza nnyazaala we oyo bwe yali gw'akoze naye, n'ayogera nti Omusajja gwe nkoze naye leero erinnya lye Bowaazi. 08RUT002.020 And Naomi said unto her daughter in law, Blessed be he of the LORD, who hath not left off his kindness to the living and to the dead. And Naomi said unto her, The man is near of kin unto us, one of our next kinsmen. %%% Nawomi n'agamba muka mwana we nti Aweebwe Mukama omukisa, atannaleka kisa kye eri abalamu n'eri abaafa. Nawomi n'amugamba nti Omusajja oyo muganda waffe ddala, omu ku banunuzi baffe. 08RUT002.021 And Ruth the Moabitess said, He said unto me also, Thou shalt keep fast by my young men, until they have ended all my harvest. %%% Luusi Omumowaabu n'ayogera nti Weewaawo, aŋŋambye nti Onoobeeranga kumpi n'abalenzi bange, okutuusa lwe balimala eby'okukungula byange byonna. 08RUT002.022 And Naomi said unto Ruth her daughter in law, It is good, my daughter, that thou go out with his maidens, that they meet thee not in any other field. %%% Awo Nawomi n'agamba Luusi muka mwana we nti Kirungi, mwana wange, oyitenga wamu n'abazaana be, so baleme okukusiŋŋaana mu nnimiro endala yonna. 08RUT002.023 So she kept fast by the maidens of Boaz to glean unto the end of barley harvest and of wheat harvest; and dwelt with her mother in law. %%% Awo n'abeeranga kumpi n'abazaana ba Bowaazi okulondanga okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n'amakungula g'eŋŋaano; n'atuula ne nnyazaala we. 08RUT003.001 Then Naomi her mother in law said unto her, My daughter, shall I not seek rest for thee, that it may be well with thee? %%% Awo Nawomi nnyazaala we n'amugamba nti Mwana wange, siikunoonyeze kuwummula, obe bulungi? 08RUT003.002 And now is not Boaz of our kindred, with whose maidens thou wast? Behold, he winnoweth barley to night in the threshingfloor. %%% Era kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba, awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro. 08RUT003.003 Wash thyself therefore, and anoint thee, and put thy raiment upon thee, and get thee down to the floor: but make not thyself known unto the man, until he shall have done eating and drinking. %%% Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, oserengete mu gguuliro: naye teweetegeeza eri omusajja oyo okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa. 08RUT003.004 And it shall be, when he lieth down, that thou shalt mark the place where he shall lie, and thou shalt go in, and uncover his feet, and lay thee down; and he will tell thee what thou shalt do. %%% Awo olunaatuuka bw'anaagalamira, wekkaanye ekifo mw'anaagalamira, naawe n'oyingira n'obikkula ebigere bye, n'ogalamira; naye anaakubuulira bw'onookola. 08RUT003.005 And she said unto her, All that thou sayest unto me I will do. %%% N'amugamba nti Byonna by'oyogedde naabikola. 08RUT003.006 And she went down unto the floor, and did according to all that her mother in law bade her. %%% N'aserengeta mu gguuliro, n'akola nga byonna bwe bibadde nnyazaala we by'amulagidde. 08RUT003.007 And when Boaz had eaten and drunk, and his heart was merry, he went to lie down at the end of the heap of corn: and she came softly, and uncovered his feet, and laid her down. %%% Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda okugalamira ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano: n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bye n'agalamira. 08RUT003.008 And it came to pass at midnight, that the man was afraid, and turned himself: and, behold, a woman lay at his feet. %%% Awo olwatuuka mu tumbi omusajja n’atya ne yeekyusa era, laba, omukazi ng'agalamidde ku bigere bye. 08RUT003.009 And he said, Who art thou? And she answered, I am Ruth thine handmaid: spread therefore thy skirt over thine handmaid; for thou art a near kinsman. %%% N'ayogera nti Ggwe ani? N'addamu nti Nze Luusi omuzaana wo: kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga oli mununuzi wange. 08RUT003.010 And he said, Blessed be thou of the LORD, my daughter: for thou hast shewed more kindness in the latter end than at the beginning, inasmuch as thou followedst not young men, whether poor or rich. %%% N'ayogera nti Oweebwe Mukama omukisa, mwana wange: olaze ekisa ekisinga obungi enkomerero okukira olubereberye, kubanga togobereranga balenzi, oba baavu oba bagagga. 08RUT003.011 And now, my daughter, fear not; I will do to thee all that thou requirest: for all the city of my people doth know that thou art a virtuous woman. %%% Ne kaakano, mwana wange, totya; naakukola byonna by'oyogera: kubanga ekibuga kyonna eky'abantu bange bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza. 08RUT003.012 And now it is true that I am thy near kinsman: howbeit there is a kinsman nearer than I. %%% Era kaakano kya mazima nga nze mununuzi wo: naye waliwo omulala ansinga nze oluganda. 08RUT003.013 Tarry this night, and it shall be in the morning, that if he will perform unto thee the part of a kinsman, well; let him do the kinsman's part: but if he will not do the part of a kinsman to thee, then will I do the part of a kinsman to thee, as the LORD liveth: lie down until the morning. %%% Beera wano ekiro kino, awo olunaatuuka enkya bw'anaakukolera emirimu egy'oluganda, kale, akole emirimu egy'oluganda: naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, kale nze ndikukolera emirimu egy'oluganda, nga Mukama bw'ali omulamu: galamira okeese obudde. 08RUT003.014 And she lay at his feet until the morning: and she rose up before one could know another. And he said, Let it not be known that a woman came into the floor. %%% N'agalamira ku bigere bye okukeesa obudde: n'agolokoka omuntu nga tannayinza kwekkaanya munne. Kubanga yayogera nti Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro. 08RUT003.015 Also he said, Bring the vail that thou hast upon thee, and hold it. And when she held it, he measured six measures of barley, and laid it on her: and she went into the city. %%% N'ayogera nti Leeta omunagiro gw'oyambadde, ogukwate; n'agukwata: n'agera ebigero mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka: n'agenda mu kibuga. 08RUT003.016 And when she came to her mother in law, she said, Who art thou, my daughter? And she told her all that the man had done to her. %%% Awo bwe yatuuka eri nnyazaala we, n'ayogera nti Ggwe ani, mwana wange? N'amubuulira byonna omusajja by'amukoledde. 08RUT003.017 And she said, These six measures of barley gave he me; for he said to me, Go not empty unto thy mother in law. %%% N'amugamba nti Ebigero bino omukaaga ebya sayiri abimpadde; kubanga ayogedde nti Togenda eri nnyazaala wo nga tolina kantu. 08RUT003.018 Then said she, Sit still, my daughter, until thou know how the matter will fall: for the man will not be in rest, until he have finished the thing this day. %%% N'alyoka agamba nti Tuula ng'osirika, mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamalawo ekigambo kino leero. 08RUT004.001 Then went Boaz up to the gate, and sat him down there: and, behold, the kinsman of whom Boaz spake came by; unto whom he said, Ho, such a one! turn aside, sit down here. And he turned aside, and sat down. %%% Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula. 08RUT004.002 And he took ten men of the elders of the city, and said, Sit ye down here. And they sat down. %%% N'atwala abasajja kkumi ku bakadde b'ekibuga n'ayogera nti Mutuule wano. Ne batuula. 08RUT004.003 And he said unto the kinsman, Naomi, that is come again out of the country of Moab, selleth a parcel of land, which was our brother Elimelech's: %%% N'agamba muganda w'omukazi nti Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki: 08RUT004.004 And I thought to advertise thee, saying, Buy it before the inhabitants, and before the elders of my people. If thou wilt redeem it, redeem it: but if thou wilt not redeem it, then tell me, that I may know: for there is none to redeem it beside thee; and I am after thee. And he said, I will redeem it. %%% era mbadde ndowooza okukutegeeza nga njogera nti Kigulire mu maaso g'abo abatuula wano, ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Bw'oyagala okukinunula, kinunule: naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye: kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira. N'ayogera nti Ndikinunula. 08RUT004.005 Then said Boaz, What day thou buyest the field of the hand of Naomi, thou must buy it also of Ruth the Moabitess, the wife of the dead, to raise up the name of the dead upon his inheritance. %%% Awo Bowaazi n'ayogera nti Bw'oligula ennimiro mu mukono gwa Nawomi, kirikugwanira ne Luusi Omumowaabu, mukazi w'oyo eyafa, okukuguza, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa. 08RUT004.006 And the kinsman said, I cannot redeem it for myself, lest I mar mine own inheritance: redeem thou my right to thyself; for I cannot redeem it. %%% Muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze: ggwe weetwalire okununula kwange okwo: kubanga nze siyinza kukinunula. 08RUT004.007 Now this was the manner in former time in Israel concerning redeeming and concerning changing, for to confirm all things; a man plucked off his shoe, and gave it to his neighbour: and this was a testimony in Israel. %%% Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne: n'okwo kwabanga bujulirwa mu Isiraeri. 08RUT004.008 Therefore the kinsman said unto Boaz, Buy it for thee. So he drew off his shoe. %%% Awo muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Kyegulire. N'anaanula engatto ye. 08RUT004.009 And Boaz said unto the elders, and unto all the people, Ye are witnesses this day, that I have bought all that was Elimelech's, and all that was Chilion's and Mahlon's, of the hand of Naomi. %%% Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi. 08RUT004.010 Moreover Ruth the Moabitess, the wife of Mahlon, have I purchased to be my wife, to raise up the name of the dead upon his inheritance, that the name of the dead be not cut off from among his brethren, and from the gate of his place: ye are witnesses this day. %%% Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa, erinnya ly'oyo eyafa lireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye: mmwe muli bajulirwa leero. 08RUT004.011 And all the people that were in the gate, and the elders, said, We are witnesses. The LORD make the woman that is come into thine house like Rachel and like Leah, which two did build the house of Israel: and do thou worthily in Ephratah, and be famous in Bethlehem: %%% Awo abantu bonna abaali mu mulyango n'abakadde ne boogera nti Ffe tuli bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri: naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu: 08RUT004.012 And let thy house be like the house of Pharez, whom Tamar bare unto Judah, of the seed which the LORD shall give thee of this young woman. %%% n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi; Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka. 08RUT004.013 So Boaz took Ruth, and she was his wife: and when he went in unto her, the LORD gave her conception, and she bare a son. %%% Awo Bowaazi n'atwala Luusi, naye n'amufiunbirwa; n'ayingira gy'ali, Mukama n'amuwa olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. 08RUT004.014 And the women said unto Naomi, Blessed be the LORD, which hath not left thee this day without a kinsman, that his name may be famous in Israel. %%% Abakazi ne bagamba Nawomi nti Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri. 08RUT004.015 And he shall be unto thee a restorer of thy life, and a nourisher of thine old age: for thy daughter in law, which loveth thee, which is better to thee than seven sons, hath born him. %%% Era alibeera gy'oli akomyawo obulamu era aliisa obukadde bwo: kubanga muka mwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab'obulenzi omusanvu, abaamuzaaliddwa. 08RUT004.016 And Naomi took the child, and laid it in her bosom, and became nurse unto it. %%% Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we. 08RUT004.017 And the women her neighbours gave it a name, saying, There is a son born to Naomi; and they called his name Obed: he is the father of Jesse, the father of David. %%% Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi. 08RUT004.018 Now these are the generations of Pharez: Pharez begat Hezron, %%% Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni; 08RUT004.019 And Hezron begat Ram, and Ram begat Amminadab, %%% Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu; 08RUT004.020 And Amminadab begat Nahshon, and Nahshon begat Salmon, %%% Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni; 08RUT004.021 And Salmon begat Boaz, and Boaz begat Obed, %%% Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi; 08RUT004.022 And Obed begat Jesse, and Jesse begat David. %%% Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi. 09S1A001.001 Now there was a certain man of Ramathaimzophim, of mount Ephraim, and his name was Elkanah, the son of Jeroham, the son of Elihu, the son of Tohu, the son of Zuph, an Ephrathite: %%% Awo waaliwo omusajja ow'e Lamasaimuzofimu, eky'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu: 09S1A001.002 And he had two wives; the name of the one was Hannah, and the name of the other Peninnah: and Peninnah had children, but Hannah had no children. %%% era yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina: era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana. 09S1A001.003 And this man went up out of his city yearly to worship and to sacrifice unto the LORD of hosts in Shiloh. And the two sons of Eli, Hophni and Phinehas, the priests of the LORD, were there. %%% Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'alinnya okusinza n'okuweerayo mu Siiro ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo. 09S1A001.004 And when the time was that Elkanah offered, he gave to Peninnah his wife, and to all her sons and her daughters, portions: %%% Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerayo ssaddaaka, n'awa emigabo Penina mukazi we ne batabani be ne bawala be: 09S1A001.005 But unto Hannah he gave a worthy portion; for he loved Hannah: but the LORD had shut up her womb. %%% naye n'awa Kaana emigabo ebiri: kubanga yamwagala Kaana, naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe. 09S1A001.006 And her adversary also provoked her sore, for to make her fret, because the LORD had shut up her womb. %%% Muggya we n'amusunguwaza nnyo okumweraliikiriza, kubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe. 09S1A001.007 And as he did so year by year, when she went up to the house of the LORD, so she provoked her; therefore she wept, and did not eat. %%% Awo musajja we bwe yakolanga bw'atyo buli mwaka, ye bwe yalinnyanga okugenda mu nnyumba ya Mukama, n'amusunguwaza bw'atyo; kyeyava akaaba amaziga n'agaana okulya. 09S1A001.008 Then said Elkanah her husband to her, Hannah, why weepest thou? and why eatest thou not? and why is thy heart grieved? am not I better to thee than ten sons? %%% Awo Erukaana musajja we n'amugamba nti Kaana, okaabira ki? kiki ekikulobera okulya? n'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? nze sisinga baana kkumi gy'oli obulungi? 09S1A001.009 So Hannah rose up after they had eaten in Shiloh, and after they had drunk. Now Eli the priest sat upon a seat by a post of the temple of the LORD. %%% Awo Kaana n'agolokoka nga bamaze okulya mu Siiro, era nga bamaze okunywa. Awo Eri kabona yali ng'atudde ku ntebe ye awaali omufuubeeto ogw'omu yeekaalu ya Mukama. 09S1A001.010 And she was in bitterness of soul, and prayed unto the LORD, and wept sore. %%% N'omwoyo gwe gwali nga gumuluma, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga. 09S1A001.011 And she vowed a vow, and said, O LORD of hosts, if thou wilt indeed look on the affliction of thine handmaid, and remember me, and not forget thine handmaid, but wilt give unto thine handmaid a man child, then I will give him unto the LORD all the days of his life, and there shall no razor come upon his head. %%% Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti Ai Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo z'alabye, n'onjijukira n'oteerabira muzaana wo, naye n'owa omuzaana wo omwana ow'obulenzi, awo ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so n'akamwano tekaliyita ku mutwe gwe: 09S1A001.012 And it came to pass, as she continued praying before the LORD, that Eli marked her mouth. %%% Awo olwatuuka, bwe yeeyongera okusaba mu maaso ga Mukama, Eri ne yekkaanya akamwa ke. 09S1A001.013 Now Hannah, she spake in her heart; only her lips moved, but her voice was not heard: therefore Eli thought she had been drunken. %%% Era Kaana yayogera mu mwoyo gwe; emimwa gye gye gyatoobera, naye eddoboozi lye teryawulikika. Eri kyeyava alowooza nti atamidde. 09S1A001.014 And Eli said unto her, How long wilt thou be drunken? put away thy wine from thee. %%% Eri n'amugamba nti Olituusa wa okutamiiranga? weggyeeko omwenge gwo. 09S1A001.015 And Hannah answered and said, No, my lord, I am a woman of a sorrowful spirit: I have drunk neither wine nor strong drink, but have poured out my soul before the LORD. %%% Kaana n'addamu n'ayogera nti Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina emwoyo ogunakuwadde: sinywedde mwenge newakubadde ekitimiiza, naye nfuse ebiri mu mmeeme yange mu maaso ga Mukama. 09S1A001.016 Count not thine handmaid for a daughter of Belial: for out of the abundance of my complaint and grief have I spoken hitherto. %%% Toyita muzaana wo muwala wa Beriali: kubanga mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nnyimye okwogera okutuusa kaakano. 09S1A001.017 Then Eli answered and said, Go in peace: and the God of Israel grant thee thy petition that thou hast asked of him. %%% Awo Eri n'addamu n’ayogera nti Genda mirembe: era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'omusabye. 09S1A001.018 And she said, Let thine handmaid find grace in thy sight. So the woman went her way, and did eat, and her countenance was no more sad. %%% N'ayogera nti omuzaana wo alabe ekisa mu maaso go. Awo omukazi ne Yeddirayo, n'alya, amaaso ge ne gatatokooterera lwa kubiri. 09S1A001.019 And they rose up in the morning early, and worshipped before the LORD, and returned, and came to their house to Ramah: and Elkanah knew Hannah his wife; and the LORD remembered her. %%% Awo ne bagolokoka enkya mu makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne batuuka mu nnyumba yaabwe mu Laama: Erukaana n'amanya Kaana mukazi we; Mukama n'amujjukira. 09S1A001.020 Wherefore it came to pass, when the time was come about after Hannah had conceived, that she bare a son, and called his name Samuel, saying, Because I have asked him of the LORD. %%% Awo olwatuuka ebiro bwe byatuuka Kaana n'aba olubuto nazaala omwana wa bulenzi; n'amutuuma erinnya lye Samwiri, nti Kubanga namusaba eri Mukama. 09S1A001.021 And the man Elkanah, and all his house, went up to offer unto the LORD the yearly sacrifice, and his vow. %%% Omusajja Erukaana n'ennyumba ye yonna ne balinnya okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'obweyamo bwe. 09S1A001.022 But Hannah went not up; for she said unto her husband, I will not go up until the child be weaned, and then I will bring him, that he may appear before the LORD, and there abide for ever. %%% Naye Kaana n'atalinnya; kubanga Yagamba bba nti Sijja kulinnyayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala alabike mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna. 09S1A001.023 And Elkanah her husband said unto her, Do what seemeth thee good; tarry until thou have weaned him; only the LORD establish his word. So the woman abode, and gave her son suck until she weaned him. %%% Erukaana bba n'amugamba nti Kola nga bw'osiima; beera awo okutuusa lw'olimala okumuggya ku mabeere; kyokka Mukama anyweze ekigambo kye. Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere. 09S1A001.024 And when she had weaned him, she took him up with her, with three bullocks, and one ephah of flour, and a bottle of wine, and brought him unto the house of the LORD in Shiloh: and the child was young. %%% Awo bwe yamala okumuggya ku mabeere, n'amutwala n'agenda naye n'alinnya, ng'alina ente ssatu, ne efa emu ey'obutta, n'ekita eky'omwenge, n'amutwala mu nnyumba ya Mukama mu Siiro: era omwana yali muto. 09S1A001.025 And they slew a bullock, and brought the child to Eli. %%% Ne batta ente ne baleetera Eri omwana. 09S1A001.026 And she said, Oh my lord, as thy soul liveth, my lord, I am the woman that stood by thee here, praying unto the LORD. %%% N'amugamba nti Ai mukama wange, nga bw'oli omulamu, mukama wange, nze ndi nukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama. 09S1A001.027 For this child I prayed; and the LORD hath given me my petition which I asked of him: %%% Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba; 09S1A001.028 Therefore also I have lent him to the LORD; as long as he liveth he shall be lent to the LORD. And he worshipped the LORD there. %%% nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu aweereddwayo eri Mukama. Ye n'asinziza Mukama eyo. 09S1A002.001 And Hannah prayed, and said, My heart rejoiceth in the LORD, mine horn is exalted in the LORD: my mouth is enlarged over mine enemies; because I rejoice in thy salvation. %%% Kaana n'asaba n'ayogera nti Omutima gwange gujaguliza Mukama, Ejjembe lyange ligulumizibwa mu Mukama: Akamwa kange kagaziye ku balabe bange; Kubanga nsanyukira obulokozi bwo. 09S1A002.002 There is none holy as the LORD: for there is none beside thee: neither is there any rock like our God. %%% Tewali mutukuvu nga Mukama; Kubanga tewali mulala wabula ggwe: So tewali lwazi oluliŋŋanga Katonda waffe. 09S1A002.003 Talk no more so exceeding proudly; let not arrogancy come out of your mouth: for the LORD is a God of knowledge, and by him actions are weighed. %%% Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa. 09S1A002.004 The bows of the mighty men are broken, and they that stumbled are girded with strength. %%% Emitego egy'abazira gimenyese. N'abo abeesittalanga beesibye amaanyi. 09S1A002.005 They that were full have hired out themselves for bread; and they that were hungry ceased: so that the barren hath born seven; and she that hath many children is waxed feeble. %%% Abakkutanga bapakasizza olw'emmere; N'abo abaalumwanga enjala bakomye weewaawo, omugumba azadde musanvu; N'oyo alina abaana abangi ayongobera. 09S1A002.006 The LORD killeth, and maketh alive: he bringeth down to the grave, and bringeth up. %%% Mukama atta n'alamya: Aserengesa mu magombe n'alinnyisa okuvaayo. 09S1A002.007 The LORD maketh poor, and maketh rich: he bringeth low, and lifteth up. %%% Mukama ayavuwaza era agaggawaza: Assa wansi, era ye agulumiza. 09S1A002.008 He raiseth up the poor out of the dust, and lifteth up the beggar from the dunghill, to set them among princes, and to make them inherit the throne of glory: for the pillars of the earth are the LORD's, and he hath set the world upon them. %%% Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubaggya mu lubungo, Okubatuuza awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'ekitiibwa: Kubanga empagi z'ensi za Mukama, Era yateeka ebintu byonna okwo. 09S1A002.009 He will keep the feet of his saints, and the wicked shall be silent in darkness; for by strength shall no man prevail. %%% Alikuuma ebigere by'abatukuvu be, Naye ababi balisirisibwa mu kizikiza; Kubanga tewaliba muntu alisinga olw'amaanyi. 09S1A002.010 The adversaries of the LORD shall be broken to pieces; out of heaven shall he thunder upon them: the LORD shall judge the ends of the earth; and he shall give strength unto his king, and exalt the horn of his anointed. %%% Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka; Alibwatuka ku bo ng'ayima mu ggulu: Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi; Era alimuwa kabaka we amaanyi, N'agulumiza ejjembe ly'oyo gwe yafukako amafuta. 09S1A002.011 And Elkanah went to Ramah to his house. And the child did minister unto the LORD before Eli the priest. %%% Awo Erukaana n'agenda e Lama mu nnyumba ye. Omwana n'aweereza Mukama mu maaso ga Eri kabona. 09S1A002.012 Now the sons of Eli were sons of Belial; they knew not the LORD. %%% Awo batabani ba Eri baali baana ba Beriali; tebaamanya Mukama. 09S1A002.013 And the priests' custom with the people was, that, when any man offered sacrifice, the priest's servant came, while the flesh was in seething, with a fleshhook of three teeth in his hand; %%% N'empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuddu wa kabona n'ajja, nga bakyafumba ennyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu mu ngalo ze; 09S1A002.014 And he struck it into the pan, or kettle, or caldron, or pot; all that the fleshhook brought up the priest took for himself. So they did in Shiloh unto all the Israelites that came thither. %%% n'akisoya mu nsaka oba bbinika oba ntamu oba sufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga kabona n'abitwalanga n'eryo. Bwe batyo bwe baakoleranga mu Siiro Abaisiraeri bonna abajjangayo. 09S1A002.015 Also before they burnt the fat, the priest's servant came, and said to the man that sacrificed, Give flesh to roast for the priest; for he will not have sodden flesh of thee, but raw. %%% Weewaawo, nga tebannaba kwokya masavu, omuddu wa kabona n'ajjanga, n'agamba omusajja eyali awaayo ssaddaaka nti Mpa ennyama okwokera kabona; kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi. 09S1A002.016 And if any man said unto him, Let them not fail to burn the fat presently, and then take as much as thy soul desireth; then he would answer him, Nay; but thou shalt give it me now: and if not, I will take it by force. %%% N'omusajja bwe yamugambanga nti Tebaaleme kwokya masavu mangu ago, n'olyoka otwala ng'emmeeme yo bw'eyagala; awo n'ayogeranga nti Nedda, naye onoogimpa kaakano: era bw'onoogaana, n'agitwala lwa maanyi. 09S1A002.017 Wherefore the sin of the young men was very great before the LORD: for men abhorred the offering of the LORD. %%% Ekibi eky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama: kubanga abantu ne batamwa ekiweebwayo eri Mukama. 09S1A002.018 But Samuel ministered before the LORD, being a child, girded with a linen ephod. %%% Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto nga yeesibye ekkanzu eya bafuta. 09S1A002.019 Moreover his mother made him a little coat, and brought it to him from year to year, when she came up with her husband to offer the yearly sacrifice. %%% Era nnyina n'amutungiranga akanagiro n'akamuleeteranga buli mwaka, bwe yalinnyanga awamu ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. 09S1A002.020 And Eli blessed Elkanah and his wife, and said, The LORD give thee seed of this woman for the loan which is lent to the LORD. And they went unto their own home. %%% Eri n'amusabira omukisa Erukaana ne mukazi we, n'ayogera nti Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yayazika Mukama. Ne baddayo ewaabwe eka. 09S1A002.021 And the LORD visited Hannah, so that she conceived, and bare three sons and two daughters. And the child Samuel grew before the LORD. %%% Awo Mukama n'ajjira Kaana n'aba olubuto n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama. 09S1A002.022 Now Eli was very old, and heard all that his sons did unto all Israel; and how they lay with the women that assembled at the door of the tabernacle of the congregation. %%% Awo Eri yali akaddiye nnyo; n'awulira byonna batabani be bye baakolanga Abaisiraeri bonna era bwe baasulanga n'abakazi abaaweererezanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 09S1A002.023 And he said unto them, Why do ye such things? for I hear of your evil dealings by all this people. %%% N'abagamba nti Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? kubanga abantu bano bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi. 09S1A002.024 Nay, my sons; for it is no good report that I hear: ye make the LORD's people to transgress. %%% Nedda, baana bange; kubanga bye mpulira si birungi n'akatono: mwonoonyesa eggwanga lya Mukama. 09S1A002.025 If one man sin against another, the judge shall judge him: but if a man sin against the LORD, who shall intreat for him? Notwithstanding they hearkened not unto the voice of their father, because the LORD would slay them. %%% Omuntu bw'asobya ku munne, Katonda alimusalira omusango: naye omuntu bw'asobya ku Mukama, alimwegayiririra ani? Naye ne batawulira ddoboozi lya kitaabwe, kubanga Mukama yali ayagala okubatta. 09S1A002.026 And the child Samuel grew on, and was in favour both with the LORD, and also with men. %%% Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi wa Katonda era n'abantu. 09S1A002.027 And there came a man of God unto Eli, and said unto him, Thus saith the LORD, Did I plainly appear unto the house of thy father, when they were in Egypt in Pharaoh's house? %%% Awo ne wajja omusajja wa Katonda eri Eri, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Neebikkulira ekika kya kitaawo, bwe baali mu Misiri nga basibiddwa mu nnyumba ya Falaawo? 09S1A002.028 And did I choose him out of all the tribes of Israel to be my priest, to offer upon mine altar, to burn incense, to wear an ephod before me? and did I give unto the house of thy father all the offerings made by fire of the children of Israel? %%% Era namuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, n'okulinnyanga ku kyoto kyange, okwotezanga obubaane, okwambalanga ekkanzu mu maaso gange? ne mpa ekika kya kitaawo ebiweebwayo byonna eby'abaana ba Isiraeri ebikolebwa n'omuliro? 09S1A002.029 Wherefore kick ye at my sacrifice and at mine offering, which I have commanded in my habitation; and honourest thy sons above me, to make yourselves fat with the chiefest of all the offerings of Israel my people? %%% Lwaki mmwe okusambira ssaddaaka yange n'ekiweebwayo gye ndi, bye nnalagira mu nnyumba yange, n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okukira nze, mmwe okwesavuwaza n'ebisinga obulungi mu ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo? 09S1A002.030 Wherefore the LORD God of Israel saith, I said indeed that thy house, and the house of thy father, should walk before me for ever: but now the LORD saith, Be it far from me; for them that honour me I will honour, and they that despise me shall be lightly esteemed. %%% Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera nti Okwogera nayogera ng'ekika kyo n'ekika kya kitaawo kinaatambuliranga mu maaso gange ennaku zonna: naye kaakano Mukama ayogera nti Kiddire eri; kubanga abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabayitengamu ka buntu. 09S1A002.031 Behold, the days come, that I will cut off thine arm, and the arm of thy father's house, that there shall not be an old man in thine house. %%% Laba, ennaku zijja, lwe ndisalako omukono gwo n'omukono gw'ennyumba ya kitaawo, waleme okuba omukadde mu nnyumba yo. 09S1A002.032 And thou shalt see an enemy in my habitation, in all the wealth which God shall give Israel: and there shall not be an old man in thine house for ever. %%% Era olitunuulira ennyumba yange ng'ebonyaabonyezebwa mu birungi byonna Katonda by'aliwa Isiraeri: so tewaabenga mukadde mu nnyumba yo ennaku zonna. 09S1A002.033 And the man of thine, whom I shall not cut off from mine altar, shall be to consume thine eyes, and to grieve thine heart: and all the increase of thine house shall die in the flower of their age. %%% N'omusajja wo gwe ssiizikirizenga okumuggya ku kyoto kyange anaabanga wa kumalawo amaaso go n'okunakuwaza omwoyo gwo: n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga nga kyebajje bavubuke. 09S1A002.034 And this shall be a sign unto thee, that shall come upon thy two sons, on Hophni and Phinehas; in one day they shall die both of them. %%% Era kano ke kaliba akabonero gy'oli akalituuka ku batabani bo bombi, Kofuni ne Finekaasi; bombi balifa ku lunaku lumu. 09S1A002.035 And I will raise me up a faithful priest, that shall do according to that which is in mine heart and in my mind: and I will build him a sure house; and he shall walk before mine anointed for ever. %%% Nange ndyeyimusiza kabona omwesigwa anaakolanga ng'ebyo bwe biri ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange: era ndimuzimbira ennyumba eyenkalakkalira; era anaatambuliranga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta. 09S1A002.036 And it shall come to pass, that every one that is left in thine house shall come and crouch to him for a piece of silver and a morsel of bread, and shall say, Put me, I pray thee, into one of the priests' offices, that I may eat a piece of bread. %%% Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira olw'ekitundu ky'effeeza n'omugaati gumu, n'ayogera nti Mpa obumu ku bwami bwa bakabona, nkwegayiridde, ndyoke ndye ku kamere. 09S1A003.001 And the child Samuel ministered unto the LORD before Eli. And the word of the LORD was precious in those days; there was no open vision. %%% Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. N'ekigambo kya Mukama kyali kya muwendo mungi mu nnaku ezo; tewaabaagawo kwolesebwa kwa lwatu. 09S1A003.002 And it came to pass at that time, when Eli was laid down in his place, and his eyes began to wax dim, that he could not see; %%% Awo olwatuuka mu biro ebyo, Eri ng'agalamidde mu kifo kye, (n’amaaso ge gaali gatanudde okuyimbaala n'atayinza kulaba,) 09S1A003.003 And ere the lamp of God went out in the temple of the LORD, where the ark of God was, and Samuel was laid down to sleep; %%% n'ettabaaza ya Katonda nga tennazikira, ne Samwiri ng'agalamidde okwebaka mu yeekaalu ya Mukama omwali ssanduuko ya Katonda; 09S1A003.004 That the LORD called Samuel: and he answered, Here am I. %%% awo Mukama n'ayita Samwiri: n'ayogera nti Nze nzuuno. 09S1A003.005 And he ran unto Eli, and said, Here am I; for thou calledst me. And he said, I called not; lie down again. And he went and lay down. %%% N'addukana mbiro n'ajja eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'ayogera nti Sikuyise; galamira nate. N'agenda, n'agalamira. 09S1A003.006 And the LORD called yet again, Samuel. And Samuel arose and went to Eli, and said, Here am I; for thou didst call me. And he answered, I called not, my son; lie down again. %%% Mukama n'amuyita nate olw'okubiri nti Samwiri. Samwiri n’agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'addamu nti Sikuyise, mwana wange; galamira nate. 09S1A003.007 Now Samuel did not yet know the LORD, neither was the word of the LORD yet revealed unto him. %%% Era Samwiri yali tannamanya Mukama, so n'ekigambo kya Mukama kyali tekinnamubikkulirwa. 09S1A003.008 And the LORD called Samuel again the third time. And he arose and went to Eli, and said, Here am I; for thou didst call me. And Eli perceived that the LORD had called the child. %%% Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogw'okusatu. N'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. Awo Eri n'ategeera nga Mukama ye ayise omwana. 09S1A003.009 Therefore Eli said unto Samuel, Go, lie down: and it shall be, if he call thee, that thou shalt say, Speak, LORD; for thy servant heareth. So Samuel went and lay down in his place. %%% Eri kyeyava agamba Samwiri nti Genda ogalamire: awo olunaatuuka, bw'anaaba ng'akuyise, n'oyogera nti Yogera, Mukama wange; kubanga omuddu wo awulira. Awo Samwiri n’agenda n'agalamira mu kifo kye. 09S1A003.010 And the LORD came, and stood, and called as at other times, Samuel, Samuel. Then Samuel answered, Speak; for thy servant heareth. %%% Mukama n'ajja n'ayimirira n'ayita ng'olulala nti Samwiri, Samwiri. Awo Samwiri n'ayogera nti Yogera; kubanga omuddu wo awulira. 09S1A003.011 And the LORD said to Samuel, Behold, I will do a thing in Israel, at which both the ears of every one that heareth it shall tingle. %%% Mukama n'agamba Samwiri nti Laba, ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira. 09S1A003.012 In that day I will perform against Eli all things which I have spoken concerning his house: when I begin, I will also make an end. %%% Ku lunaku olwo ndituukiriza ku Eri byonna bye nnaakayogera ku nnyumba ye, okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomeraro. 09S1A003.013 For I have told him that I will judge his house for ever for the iniquity which he knoweth; because his sons made themselves vile, and he restrained them not. %%% Kubanga namugamba nga ndisalira ennyumba ye omusango ogw'ennaku zonna, olw'obutali butuukirivu bwe yamanya, kubanga batabani be beereetako ekikolimo, ye n'atabaziyiza. 09S1A003.014 And therefore I have sworn unto the house of Eli, that the iniquity of Eli's house shall not be purged with sacrifice nor offering for ever. %%% Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Eri tebugenda kulongoosebwa na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo ennaku zonna. 09S1A003.015 And Samuel lay until the morning, and opened the doors of the house of the LORD. And Samuel feared to shew Eli the vision. %%% Samwiri n'agalamira n'akeesa obudde, n'alyoka aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama. Samwiri n'atya okubuulira Eri bye yayolesebwa. 09S1A003.016 Then Eli called Samuel, and said, Samuel, my son. And he answered, Here am I. %%% Awo Eri n'ayita Samwiri n'ayogera nti Samwiri, mwana wange. N'ayogera nti Nze nzuuno. 09S1A003.017 And he said, What is the thing that the LORD hath said unto thee? I pray thee hide it not from me: God do so to thee, and more also, if thou hide any thing from me of all the things that he said unto thee. %%% N'ayogera nti Kigambo ki Mukama ky'akugambye? nkwegayiridde, tokinkisa: Katonda akukole bw'atyo n'okukirawo, bw'ononkisa ekigambo kyonna ku ebyo byonna by'akugambye. 09S1A003.018 And Samuel told him every whit, and hid nothing from him. And he said, It is the LORD: let him do what seemeth him good. %%% Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. N'ayogera nti Ye Mukama: akole nga bw'asiima. 09S1A003.019 And Samuel grew, and the LORD was with him, and did let none of his words fall to the ground. %%% Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, n'ataganya bigambo bye kugwa wansi na kimu. 09S1A003.020 And all Israel from Dan even to Beersheba knew that Samuel was established to be a prophet of the LORD. %%% Abaisiraeri bonna okuva eri Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama. 09S1A003.021 And the LORD appeared again in Shiloh: for the LORD revealed himself to Samuel in Shiloh by the word of the LORD. %%% Mukama n'alabikira nate mu Siiro: kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro n'ekigambo kya Mukama. 09S1A004.001 And the word of Samuel came to all Israel. Now Israel went out against the Philistines to battle, and pitched beside Ebenezer: and the Philistines pitched in Aphek. %%% Ekigambo kya Samwiri ne kijjira Israeri yenna. Awo Abaisiraeri ne batabaala okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira ku bbali lya Ebenezeri: Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki. 09S1A004.002 And the Philistines put themselves in array against Israel: and when they joined battle, Israel was smitten before the Philistines: and they slew of the army in the field about four thousand men. %%% Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulwana n'Abaisiraeri: awo bwe baatuukaganako, Isiraeri n'akubibwa mu maaso g'Abafirisuuti: ne battira awo ku ggye lyabwe abasajja ng'enkumi nnya. 09S1A004.003 And when the people were come into the camp, the elders of Israel said, Wherefore hath the LORD smitten us to day before the Philistines? Let us fetch the ark of the covenant of the LORD out of Shiloh unto us, that, when it cometh among us, it may save us out of the hand of our enemies. %%% Awo abantu bwe baatuuka mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne boogera nti Mukama atukubidde ki leero mu maaso g'Abafirisuuti? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga tugiggya mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ffe etulokole mu mukono gw'abalabe baffe. 09S1A004.004 So the people sent to Shiloh, that they might bring from thence the ark of the covenant of the LORD of hosts, which dwelleth between the cherubims: and the two sons of Eli, Hophni and Phinehas, were there with the ark of the covenant of God. %%% Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano ya Mukama ow'eggye, atuula ku bakerubi: ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda. 09S1A004.005 And when the ark of the covenant of the LORD came into the camp, all Israel shouted with a great shout, so that the earth rang again. %%% Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n’ewuumira ddala. 09S1A004.006 And when the Philistines heard the noise of the shout, they said, What meaneth the noise of this great shout in the camp of the Hebrews? And they understood that the ark of the LORD was come into the camp. %%% Awo Abafirisuuti bwe baawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, ne boogera nti Eddoboozi eryo lye boogerera waggulu ennyo mu lusiisira lw'Abaebbulaniya amakulu gaalyo ki? Ne bategeera ng'essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira. 09S1A004.007 And the Philistines were afraid, for they said, God is come into the camp. And they said, Woe unto us! for there hath not been such a thing heretofore. %%% Awo Abafirisuuti ne batya kubanga baayogera nti Katonda atuuse mu lusiisira. Ne boogera nti Zitusanze! kubanga obw'edda tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. 09S1A004.008 Woe unto us! who shall deliver us out of the hand of these mighty Gods? these are the Gods that smote the Egyptians with all the plagues in the wilderness. %%% Zitusanze! ani alitulokola mu mukono gwa bakatonda abo ab'amaanyi? Be bakatonda abo abaabonyezabonyeza Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebitali bimu. 09S1A004.009 Be strong, and quit yourselves like men, O ye Philistines, that ye be not servants unto the Hebrews, as they have been to you: quit yourselves like men, and fight. %%% Muddeemu amaanyi, mwerage obusajja, mmwe Abafirisuuti, muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya, nga bo bwe baabanga abammwe: mwerage obusajja, mulwane. 09S1A004.010 And the Philistines fought, and Israel was smitten, and they fled every man into his tent: and there was a very great slaughter; for there fell of Israel thirty thousand footmen. %%% Awo Abafirisuuti ne balwana, Isiraeri n'akubibwa, ne baddukira buli muntu mu weema ye: ne waba olutta lunene nnyo; kubanga ku Baisiraeri ne kugwa abasajja abatambula n'ebigere obukumi busatu. 09S1A004.011 And the ark of God was taken; and the two sons of Eli, Hophni and Phinehas, were slain. %%% Ssanduuko ya Mukama n’enyagibwa; batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa. 09S1A004.012 And there ran a man of Benjamin out of the army, and came to Shiloh the same day with his clothes rent, and with earth upon his head. %%% Omusajja wa Benyamini n’ava mu ggye n'adduka n'atuuka e Siiro ku lunaku olwo, engoye ze nga ziyulise n'ettaka nga liri ku mutwe gwe. 09S1A004.013 And when he came, lo, Eli sat upon a seat by the wayside watching: for his heart trembled for the ark of God. And when the man came into the city, and told it, all the city cried out. %%% Awo bwe yajja, laba, Eri ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'atunuulira: kubanga omutima gwe gwali gukankanira sanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga n'akibuulira, ekibuga kyonna ne kyogerera waggulu. 09S1A004.014 And when Eli heard the noise of the crying, he said, What meaneth the noise of this tumult? And the man came in hastily, and told Eli. %%% Awo Eri bwe yawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, n'ayogera nti Eddoboozi ery'oluyoogaano luno amakulu gaalyo ki? Omusajja n'ayanguwa n'ajja n'abuulira Eri. 09S1A004.015 Now Eli was ninety and eight years old; and his eyes were dim, that he could not see. %%% Era Eri yali nga yaakamaze emyaka kyenda mu munaana; n'amaaso ge gaali gayimbadde n'atayinza kulaba. 09S1A004.016 And the man said unto Eli, I am he that came out of the army, and I fled to day out of the army. And he said, What is there done, my son? %%% Omusajja n'agamba Eri nti Nze nzuuyo eyavudde mu ggye, ne nziruka leero okuva mu ggye. N'ayogera nti Byali bitya, mwana wange? 09S1A004.017 And the messenger answered and said, Israel is fled before the Philistines, and there hath been also a great slaughter among the people, and thy two sons also, Hophni and Phinehas, are dead, and the ark of God is taken. %%% Awo oyo eyaleeta ebigambo n'addamu n'ayogera nti Abaisiraeri badduse mu maaso g'Abafirisuuti, era wabaddewo olutta olunene mu bantu, era ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa. 09S1A004.018 And it came to pass, when he made mention of the ark of God, that he fell from off the seat backward by the side of the gate, and his neck brake, and he died: for he was an old man, and heavy. And he had judged Israel forty years. %%% Awo olwatuuka bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, n'agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mabbali g'omulyango, obulago bwe ne bukutukako n'afa: kubanga yali mukadde n'obuzito muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana. 09S1A004.019 And his daughter in law, Phinehas' wife, was with child, near to be delivered: and when she heard the tidings that the ark of God was taken, and that her father in law and her husband were dead, she bowed herself and travailed; for her pains came upon her. %%% Awo muka mwana we, mukazi wa Finekaasi, yali lubuto ng'alitera okuzaala: awo bwe yawulira ebigambo nga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'akutama n'azaala: kubanga obulumi bwe bwamutuukako. 09S1A004.020 And about the time of her death the women that stood by her said unto her, Fear not; for thou hast born a son. But she answered not, neither did she regard it. %%% Awo ng'anaatera okufa abakazi abaayimirira wali ne bamugamba nti Totya; kubanga ozadde omwana wa bulenzi. Naye n'ataddamu so teyassaayo mwoyo. 09S1A004.021 And she named the child Ichabod, saying, The glory is departed from Israel: because the ark of God was taken, and because of her father in law and her husband. %%% N'atuuma omwana Ikabodi ng'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri: kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne kulwa ssezaala we ne bba 09S1A004.022 And she said, The glory is departed from Israel: for the ark of God is taken. %%% N'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa. 09S1A005.001 And the Philistines took the ark of God, and brought it from Ebenezer unto Ashdod. %%% Awo Ababrisuuti baali banyaze essanduuko ya Katonda, ne bagiggya e Ebenezeri ne bagitwala e Asudodi. 09S1A005.002 When the Philistines took the ark of God, they brought it into the house of Dagon, and set it by Dagon. %%% Abafirisuuti ne baddira essanduuko ya Katonda ne bagireeta mu ssabo lya Dagoni ne bagiteeka ku mabbali ga Dagoni. 09S1A005.003 And when they of Ashdod arose early on the morrow, behold, Dagon was fallen upon his face to the earth before the ark of the LORD. And they took Dagon, and set him in his place again. %%% Abasudodi bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama. Ne baddira Dagoni ne bamuzza nate mu kifo kye. 09S1A005.004 And when they arose early on the morrow morning, behold, Dagon was fallen upon his face to the ground before the ark of the LORD; and the head of Dagon and both the palms of his hands were cut off upon the threshold; only the stump of Dagon was left to him. %%% Awo bwe baagolokoka olw'okubiri enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssaaduuko ya Mukama; n'omutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombi eby'emikono gye nga bitemeddwako nga bigalamidde mu mulyango; ekiwududu kya Dagoni kye kyamusigalirawo kyokka. 09S1A005.005 Therefore neither the priests of Dagon, nor any that come into Dagon's house, tread on the threshold of Dagon in Ashdod unto this day. %%% Bakabona ba Dagoni kyebaava balema okuiinnya ku mulyango gwa Dagoni mu Asudodi na buli kati, newakubadde omuntu yenna ayingira mu nnyumba ya Dagoni. 09S1A005.006 But the hand of the LORD was heavy upon them of Ashdod, and he destroyed them, and smote them with emerods, even Ashdod and the coasts thereof. %%% Naye omukono gwa Mukama ne gubazitoowerera Abasudodi, n'abazikiriza, n'abalwaza ebizimba, Asudodi era n'ensalo zaakyo. 09S1A005.007 And when the men of Ashdod saw that it was so, they said, The ark of the God of Israel shall not abide with us: for his hand is sore upon us, and upon Dagon our god. %%% Awo Abasudodi bwe baalaba nga kyali bwe kityo, ne boogera nti Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri teribeera naffe: kubanga omukono gwe gutuluma ne Dagoni Katonda waffe. 09S1A005.008 They sent therefore and gathered all the lords of the Philistines unto them, and said, What shall we do with the ark of the God of Israel? And they answered, Let the ark of the God of Israel be carried about unto Gath. And they carried the ark of the God of Israel about thither. %%% Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya gye bali abaami bonna ab'Abafirisuuti ne boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isiraeri? Ne baddamu nti Essaaduuko ya Katonda wa Isiraeri etambuzibwe okutuusa e Gaasi. Ne batambuza essanduuko ya Katonda wa Isiraeri. 09S1A005.009 And it was so, that, after they had carried it about, the hand of the LORD was against the city with a very great destruction: and he smote the men of the city, both small and great, and they had emerods in their secret parts. %%% Awo olwatuuka, bwe baamala okugitambuza, omukono gwa Mukama ne gulwana n'ekibuga ne gubakeŋŋentereza nnyo nnyini: n'alwaza ab'omu kibuga, abato n'abakulu, ebizimba ne bifuutuuka ku bo. 09S1A005.010 Therefore they sent the ark of God to Ekron. And it came to pass, as the ark of God came to Ekron, that the Ekronites cried out, saying, They have brought about the ark of the God of Israel to us, to slay us and our people. %%% Awo ne baweereza essanduuko ya Katonda okugenda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yatuuka e Ekuloni, Abaekuloni ne boogerera waggulu nga boogera nti Batambuzizza essaaduuko ya Katonda wa Isiraeri ne bagituusa gye tuli, okututta n'abantu baffe. 09S1A005.011 So they sent and gathered together all the lords of the Philistines, and said, Send away the ark of the God of Israel, and let it go again to his own place, that it slay us not, and our people: for there was a deadly destruction throughout all the city; the hand of God was very heavy there. %%% Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne boogera nti Musindike essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, eddeyo mu kifo kyayo, ereme okututta n'abantu baffe: kubanga okukeŋŋenterera okw'okufa kwabuna ekibuga kyonna; omukono gwa Katonda gwazitowa nnyo eyo. 09S1A005.012 And the men that died not were smitten with the emerods: and the cry of the city went up to heaven. %%% N'abo abataafa ne balwala ebizimba: okukaaba kw'ekibuga ne kulinnya mu ggulu. 09S1A006.001 And the ark of the LORD was in the country of the Philistines seven months. %%% Awo essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu ng'eri mu nsi ey'Abafirisuuti. 09S1A006.002 And the Philistines called for the priests and the diviners, saying, What shall we do to the ark of the LORD? tell us wherewith we shall send it to his place. %%% Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abafumu, nga boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Mukama? tutegeeze bwe tuba tugiweereza okugenda mu kifo kyayo. 09S1A006.003 And they said, If ye send away the ark of the God of Israel, send it not empty; but in any wise return him a trespass offering: then ye shall be healed, and it shall be known to you why his hand is not removed from you. %%% Ne boogera nti Bwe munaasindika essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okugenda, temugisindika njereere; naye temulema kumuweereza ekiweebwayo olw'omusango: ne mulyoka muwona, era kiritegeerwa mmwe ekirobera okubaggyako omukono gwe. 09S1A006.004 Then said they, What shall be the trespass offering which we shall return to him? They answered, Five golden emerods, and five golden mice, according to the number of the lords of the Philistines: for one plague was on you all, and on your lords. %%% Awo ne boogera nti Ekiweebwayo olw'omusango kye tulimuweereza kiriba ki? Ne boogera nti Ebizimba ebya zaabu bitaano n'emisonso egya zaabu etaano, ng'abaami b'Abafirisuuti bwe benkana omuwendo: kubanga ekibonoobono ekimu kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe. 09S1A006.005 Wherefore ye shall make images of your emerods, and images of your mice that mar the land; and ye shall give glory unto the God of Israel: peradventure he will lighten his hand from off you, and from off your gods, and from off your land. %%% Kyemunaava mwekolera ebifaananyi by'ebizimba byammwe n'ebifaananyi by'emisonso gyammwe egyonoona ensi; era muliwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri: mpozzi aliggya omukono gwe ku mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe. 09S1A006.006 Wherefore then do ye harden your hearts, as the Egyptians and Pharaoh hardened their hearts? when he had wrought wonderfully among them, did they not let the people go, and they departed? %%% Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe? bwe yamala okukola mu bo eby'ekitalo, tebakkiriza bantu kugenda ne bagenda? 09S1A006.007 Now therefore make a new cart, and take two milch kine, on which there hath come no yoke, and tie the kine to the cart, and bring their calves home from them: %%% Kale nno kaakano muddire eggaali empya mugyeteekereteekere, n'ente bbiri eziramulwa, ezitateekebwangako kikoligo, musibe ente ku ggaali, muziggyeko ennyana zaazo muzizze eka: 09S1A006.008 And take the ark of the LORD, and lay it upon the cart; and put the jewels of gold, which ye return him for a trespass offering, in a coffer by the side thereof; and send it away, that it may go. %%% muddire essanduuko ya Mukama, mugiteeke ku ggaali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwayo olw'omusango, mu bbweta ku mabbali gaayo; mugisindike egende. 09S1A006.009 And see, if it goeth up by the way of his own coast to Bethshemesh, then he hath done us this great evil: but if not, then we shall know that it is not his hand that smote us: it was a chance that happened to us. %%% Awo mutegeere, bw'eryambukira mu kkubo ery'ensalo yaayo okugenda e Besusemesi, awo nga ye yatukoze ekibi kino ekinene: naye bwe kitaliba bwe kityo, awo tulitegeera ng'omukono gwe si gwe gwatukuba; kyatugwira bugwizi. 09S1A006.010 And the men did so; and took two milch kine, and tied them to the cart, and shut up their calves at home: %%% Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri eziramulwa, ne bazisiba ku ggaali, ne basiba ennyana zaazo eka. 09S1A006.011 And they laid the ark of the LORD upon the cart, and the coffer with the mice of gold and the images of their emerods. %%% ne bateeka essanduuko ya Mukama ku ggaali, n'ebbweta erimu emisonso egya zaabu n'ebifaananyi by'ebizimba byabwe. 09S1A006.012 And the kine took the straight way to the way of Bethshemesh, and went along the highway, lowing as they went, and turned not aside to the right hand or to the left; and the lords of the Philistines went after them unto the border of Bethshemesh. %%% Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi, zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo eye Besusemesi. 09S1A006.013 And they of Bethshemesh were reaping their wheat harvest in the valley: and they lifted up their eyes, and saw the ark, and rejoiced to see it. %%% N'Ababesusemesi baali nga bakungula eŋŋaano Yaabwe mu kiwonvu: ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba. 09S1A006.014 And the cart came into the field of Joshua, a Bethshemite, and stood there, where there was a great stone: and they clave the wood of the cart, and offered the kine a burnt offering unto the LORD. %%% Eggaali n'ejja mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene: ne baasa emiti egy'eggaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 09S1A006.015 And the Levites took down the ark of the LORD, and the coffer that was with it, wherein the jewels of gold were, and put them on the great stone: and the men of Bethshemesh offered burnt offerings and sacrificed sacrifices the same day unto the LORD. %%% Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n'ebbweta eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene: Ababesusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama. 09S1A006.016 And when the five lords of the Philistines had seen it, they returned to Ekron the same day. %%% N'abaami abataano ab'Abafirisuuti bwe baakiraba, ne baddayo e Ekuloni ku lunaku olwo. 09S1A006.017 And these are the golden emerods which the Philistines returned for a trespass offering unto the LORD; for Ashdod one, for Gaza one, for Askelon one, for Gath one, for Ekron one; %%% N'ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino: ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu; 09S1A006.018 And the golden mice, according to the number of all the cities of the Philistines belonging to the five lords, both of fenced cities, and of country villages, even unto the great stone of Abel, whereon they set down the ark of the LORD: which stone remaineth unto this day in the field of Joshua, the Bethshemite. %%% n'emisonso egya zaabu ng'ebibuga byonna eby'Abafirisuuti eby'abaami abataano bwe byenkana omuwendo, ebibuga ebiriko enkomera era n'embuga ez'omu byalo: okutuusa ku jjinja eryo eddene, kwe bassa ssanduuko ya Mukama, eririwo na guno gujwa mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi. 09S1A006.019 And he smote the men of Bethshemesh, because they had looked into the ark of the LORD, even he smote of the people fifty thousand and threescore and ten men: and the people lamented, because the LORD had smitten many of the people with a great slaughter. %%% N'atta ku Babesusemesi, kubanga baali balingizizza mu ssanduuko ya Mukama, n'atta ye ku bantu abasajja obukumi butaano mu nsanvu: abantu ne banakuwala, kubanga Mukama yatta abantu olutta olunene. 09S1A006.020 And the men of Bethshemesh said, Who is able to stand before this holy LORD God? and to whom shall he go up from us? %%% Ababesusemesi ne boogera nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama Katonda ono omutukuvu? era eri ani gy'alirinnya ng'atuvuddeko? 09S1A006.021 And they sent messengers to the inhabitants of Kirjathjearim, saying, The Philistines have brought again the ark of the LORD; come ye down, and fetch it up to you. %%% Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; muserengete mmwe, mugikime erinnye gye muli. 09S1A007.001 And the men of Kirjathjearim came, and fetched up the ark of the LORD, and brought it into the house of Abinadab in the hill, and sanctified Eleazar his son to keep the ark of the LORD. %%% Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama. 09S1A007.002 And it came to pass, while the ark abode in Kirjathjearim, that the time was long; for it was twenty years: and all the house of Israel lamented after the LORD. %%% Awo olwatuuka okuva ku lunaku essanduuko bwe yabeera mu Kiriyasuyalimu, ne wabaawo ekiseera kinene; kubanga gyali emyaka abiri n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne banoonya Mukama nga banakuwala. 09S1A007.003 And Samuel spake unto all the house of Israel, saying, If ye do return unto the LORD with all your hearts, then put away the strange gods and Ashtaroth from among you, and prepare your hearts unto the LORD, and serve him only: and he will deliver you out of the hand of the Philistines. %%% Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abagenyi ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka: naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti. 09S1A007.004 Then the children of Israel did put away Baalim and Ashtaroth, and served the LORD only. %%% Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka. 09S1A007.005 And Samuel said, Gather all Israel to Mizpeh, and I will pray for you unto the LORD. %%% Awo Samwiri n'ayogera nti Mukuŋŋaanye Isiraeri yenna bajje e Mizupa, nange ndibasabira eri Mukama. 09S1A007.006 And they gathered together to Mizpeh, and drew water, and poured it out before the LORD, and fasted on that day, and said there, We have sinned against the LORD. And Samuel judged the children of Israel in Mizpeh. %%% Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagafuka mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti Twasobya ku Mukama. Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri e Mizupa. 09S1A007.007 And when the Philistines heard that the children of Israel were gathered together to Mizpeh, the lords of the Philistines went up against Israel. And when the children of Israel heard it, they were afraid of the Philistines. %%% Awo Abafirisuuti bwe baawulira ng'abaana ba Isiraeri bakuŋŋanidde e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ne batabaala Isiraeri. N'abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. 09S1A007.008 And the children of Israel said to Samuel, Cease not to cry unto the LORD our God for us, that he will save us out of the hand of the Philistines. %%% Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti Toleka kukaabira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti. 09S1A007.009 And Samuel took a sucking lamb, and offered it for a burnt offering wholly unto the LORD: and Samuel cried unto the LORD for Israel; and the LORD heard him. %%% Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka n’aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama: Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri: Mukama n'amuddamu. 09S1A007.010 And as Samuel was offering up the burnt offering, the Philistines drew near to battle against Israel: but the LORD thundered with a great thunder on that day upon the Philistines, and discomfited them; and they were smitten before Israel. %%% Awo Samwiri ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri: naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti n'abakeŋŋentereza; ne bameggebwa wansi mu maaso ga Isiraeri. 09S1A007.011 And the men of Israel went out of Mizpeh, and pursued the Philistines, and smote them, until they came under Bethcar. %%% Abasajja ba Isiraeri ne bava mu Mizupa ne bagoberera Abafirisuuti ne babatta okutuusa lwe baatuuka ku Besukali. 09S1A007.012 Then Samuel took a stone, and set it between Mizpeh and Shen, and called the name of it Ebenezer, saying, Hitherto hath the LORD helped us. %%% Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati w'e Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti Okutuusa kaakano Mukama atubedde. 09S1A007.013 So the Philistines were subdued, and they came no more into the coast of Israel: and the hand of the LORD was against the Philistines all the days of Samuel. %%% Abafirisuuti ne bajeemululwa bwe batyo, ne batatuuka lwa kubiri mu nsalo ya Isiraeri: n'omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri. 09S1A007.014 And the cities which the Philistines had taken from Israel were restored to Israel, from Ekron even unto Gath; and the coasts thereof did Israel deliver out of the hands of the Philistines. And there was peace between Israel and the Amorites. %%% N'ebibuga Abafirisuuti bye baali baggye ku Isiraeri ne bizzibwa eri Isiraeri okuva ku Ekuloni okutuusa ku Gaasi; n’ensalo yaabyo Isiraeri n’agiggya mu mukono gw'Abafirisuuti. Ne Isiraeri n'Abamoli ne baba n'emirembe. 09S1A007.015 And Samuel judged Israel all the days of his life. %%% Samwiri n’alamulira Isiraeri ennaku zonna ez'obulamu bwe. 09S1A007.016 And he went from year to year in circuit to Bethel, and Gilgal, and Mizpeh, and judged Israel in all those places. %%% Ne yeetooloolanga buli mwaka n'agenda e Beseri ne Girugaali ne Mizupa; n'alamulira Isiraeri mu bifo ebyo byonna. 09S1A007.017 And his return was to Ramah; for there was his house; and there he judged Israel; and there he built an altar unto the LORD. %%% N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n’alamulira eyo Isiraeri: n'azimba eyo ekyoto eri Mukama. 09S1A008.001 And it came to pass, when Samuel was old, that he made his sons judges over Israel. %%% Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be abalamuzi ba Isiraeri. 09S1A008.002 Now the name of his firstborn was Joel; and the name of his second, Abiah: they were judges in Beersheba. %%% N'omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya: baali balamuzi mu Beeruseba. 09S1A008.003 And his sons walked not in his ways, but turned aside after lucre, and took bribes, and perverted judgment. %%% Batabani be ne batatambulira mu makubo ge, naye ne bakyama okugoberera ebintu, ne balya enguzi, ne balya ensonga. 09S1A008.004 Then all the elders of Israel gathered themselves together, and came to Samuel unto Ramah, %%% Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama: 09S1A008.005 And said unto him, Behold, thou art old, and thy sons walk not in thy ways: now make us a king to judge us like all the nations. %%% ne bamugamba nti Laba, ggwe oli mukadde, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'amawanga gonna. 09S1A008.006 But the thing displeased Samuel, when they said, Give us a king to judge us. And Samuel prayed unto the LORD. %%% Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti Tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'asaba Mukama. 09S1A008.007 And the LORD said unto Samuel, Hearken unto the voice of the people in all that they say unto thee: for they have not rejected thee, but they have rejected me, that I should not reign over them. %%% Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba: kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe. 09S1A008.008 According to all the works which they have done since the day that I brought them up out of Egypt even unto this day, wherewith they have forsaken me, and served other gods, so do they also unto thee. %%% Ng'emirimu gyonna bwe giri gye baakakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya mu Misiri okutuusa leero, kubanga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo. 09S1A008.009 Now therefore hearken unto their voice: howbeit yet protest solemnly unto them, and shew them the manner of the king that shall reign over them. %%% Kale nno kaakano wulira eddoboozi lyabwe: naye onoobategeereza ddala n'obalaga kabaka bw'alifaanana alibafuga. 09S1A008.010 And Samuel told all the words of the LORD unto the people that asked of him a king. %%% Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna. 09S1A008.011 And he said, This will be the manner of the king that shall reign over you: He will take your sons, and appoint them for himself, for his chariots, and to be his horsemen; and some shall run before his chariots. %%% N'ayogera nti Bw'ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala batabani bammwe n'abeewandiikira olw'amagaali ge era okuba abasajja be abeebagala embalaasi; awo banaddukiranga mu maaso g'amagaali ge: 09S1A008.012 And he will appoint him captains over thousands, and captains over fifties; and will set them to ear his ground, and to reap his harvest, and to make his instruments of war, and instruments of his chariots. %%% era alibeewandiikira okuba abaami b'enkumi n’abaami b'ataano; era alissaawo abamu okulima ensi ye n'okukungula ebikungulwa bye, n'okuweesa ebintu bye ebyokulwanyisa n'ebintu eby'omu magaali ge. 09S1A008.013 And he will take your daughters to be confectionaries, and to be cooks, and to be bakers. %%% Era alitwala bawala bammwe okufumbanga eby'akaloosa era okuba abafumbiro era okuba abasiisi. 09S1A008.014 And he will take your fields, and your vineyards, and your oliveyards, even the best of them, and give them to his servants. %%% Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be. 09S1A008.015 And he will take the tenth of your seed, and of your vineyards, and give to his officers, and to his servants. %%% Era alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'ensigo zammwe n'eky'ensuku zammwe ez'emizabibu n'agabira abaami be n'abaddu be. 09S1A008.016 And he will take your menservants, and your maidservants, and your goodliest young men, and your asses, and put them to his work. %%% Era alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'abalenzi bammwe abasinga obulungi n'endogoyi zammwe n'abakoza emirimu gye. 09S1A008.017 He will take the tenth of your sheep: and ye shall be his servants. %%% Alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'endiga zammwe: era muliba baddu be. 09S1A008.018 And ye shall cry out in that day because of your king which ye shall have chosen you; and the LORD will not hear you in that day. %%% Era mulikaaba ku lunaku olwo olwa kabaka wammwe gwe muliba mwerondedde; so Mukama talibaddiramu ku lunaku olwo. 09S1A008.019 Nevertheless the people refused to obey the voice of Samuel; and they said, Nay; but we will have a king over us; %%% Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti Nedda; naye twagala kabaka atufuge; 09S1A008.020 That we also may be like all the nations; and that our king may judge us, and go out before us, and fight our battles. %%% naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atabaalenga ng'atukulembedde atulwanirirenga entalo zaffe. 09S1A008.021 And Samuel heard all the words of the people, and he rehearsed them in the ears of the LORD. %%% Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abyogera mu matu ga Mukama. 09S1A008.022 And the LORD said to Samuel, Hearken unto their voice, and make them a king. And Samuel said unto the men of Israel, Go ye every man unto his city. %%% Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti Muddeeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe. 09S1A009.001 Now there was a man of Benjamin, whose name was Kish, the son of Abiel, the son of Zeror, the son of Bechorath, the son of Aphiah, a Benjamite, a mighty man of power. %%% Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afia omwana w'Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira. 09S1A009.002 And he had a son, whose name was Saul, a choice young man, and a goodly: and there was not among the children of Israel a goodlier person than he: from his shoulders and upward he was higher than any of the people. %%% Era yalina omwana, erinnya lye Sawulo, omulenzi omulungi: so mu baana ba Isiraeri temwali muntu eyamusinga obulungi: okuva ku bibegabega bye n'okwambuka yasinga abantu bonna obuwanvu. 09S1A009.003 And the asses of Kish Saul's father were lost. And Kish said to Saul his son, Take now one of the servants with thee, and arise, go seek the asses. %%% Awo endogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n'agamba Sawulo mutabani we nti Twala omu ku baddu agende naawe ogolokoke ogende onoonye endogoyi. 09S1A009.004 And he passed through mount Ephraim, and passed through the land of Shalisha, but they found them not: then they passed through the land of Shalim, and there they were not: and he passed through the land of the Benjamites, but they found them not. %%% Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n’ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba: awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo: n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba. 09S1A009.005 And when they were come to the land of Zuph, Saul said to his servant that was with him, Come, and let us return; lest my father leave caring for the asses, and take thought for us. %%% Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti Tugende tuddeyo; kitange aleme okuleka okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ffe. 09S1A009.006 And he said unto him, Behold now, there is in this city a man of God, and he is an honourable man; all that he saith cometh surely to pass: now let us go thither; peradventure he can shew us our way that we should go. %%% N'amugamba nti Laba nno, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era omusajja oyo bamussaamu ekitiibwa; byonna by'ayogera tebirema kutuukirira: tugende eyo kaakano; mpozzi ye anaayinza okutubuulira eby'olugendo lwaffe lwe tutambula. 09S1A009.007 Then said Saul to his servant, But, behold, if we go, what shall we bring the man? for the bread is spent in our vessels, and there is not a present to bring to the man of God: what have we? %%% Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti Naye, laba, bwe tunaagenda kiki kye tunaatwalira omusajja? kubanga emmere ewedde mu bintu byaffe, so tewali kirabo kye tuba tutwalira omusajja wa Katonda tulina ki? 09S1A009.008 And the servant answered Saul again, and said, Behold, I have here at hand the fourth part of a shekel of silver: that will I give to the man of God, to tell us our way. %%% Omuddu n'amuddamu Sawulo nate n'ayogera nti Laba, nnina ekitundu eky'okuna ekya sekeri eya ffeeza mu ngalo zange: ekyo kye nnaawa omusajja wa Katonda atulagirire ekkubo lyaffe. 09S1A009.009 (Beforetime in Israel, when a man went to enquire of God, thus he spake, Come, and let us go to the seer: for he that is now called a Prophet was beforetime called a Seer.) %%% (Edda mu Isiraeri, omuntu bwe yagendanga okubuuza Katonda, n'ayogeranga bw'ati nti Jjangu tugende eri omulabi: kubanga oyo ayitibwa nnabbi kaakano baamuyitanga mulabi edda.) 09S1A009.010 Then said Saul to his servant, Well said; come, let us go. So they went unto the city where the man of God was. %%% Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti Oyogedde bulungi; jjangu tugende. Awo ne bayingira mu kibuga omwali omusajja wa Katonda. 09S1A009.011 And as they went up the hill to the city, they found young maidens going out to draw water, and said unto them, Is the seer here? %%% Awo bwe baali balinnya awayambukirwa mu kibuga, ne basanga abawala abato nga bafuluma okusena amazzi, ne babagamba nti Omulabi ali wano? 09S1A009.012 And they answered them, and said, He is; behold, he is before you: make haste now, for he came to day to the city; for there is a sacrifice of the people to day in the high place: %%% Ne babaddamu ne boogera nti Waali; laba, ali mu maaso go: yanguwa nno, kubanga atuuse mu kibuga leero; kubanga abantu balina ssaddaaka leero mu kifo ekigulumivu: 09S1A009.013 As soon as ye be come into the city, ye shall straightway find him, before he go up to the high place to eat: for the people will not eat until he come, because he doth bless the sacrifice; and afterwards they eat that be bidden. Now therefore get you up; for about this time ye shall find him. %%% bwe munaaba nga mutuuse mu kibuga, munaamulaba mangu ago, nga tannaba kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya: kubanga abantu tebaalye nga tannajja, kubanga ye asabira ssaddaaka omukisa; awo abaayitibwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke; kubanga kaakano lwe munaamulaba. 09S1A009.014 And they went up into the city: and when they were come into the city, behold, Samuel came out against them, for to go up to the high place. %%% Ne bambuka mu kibuga; awo bwe baali bayingira mu kibuga, laba, Samwiri n'afuluma okuboolekera, okwambuka mu kifo ekigulumivu. 09S1A009.015 Now the LORD had told Samuel in his ear a day before Saul came, saying, %%% Awo Mukama yali abikkulidde Samwiri ng'ekyasigaddeyo olunaku lumu Sawulo okujja, ng'ayogera nti 09S1A009.016 To morrow about this time I will send thee a man out of the land of Benjamin, and thou shalt anoint him to be captain over my people Israel, that he may save my people out of the hand of the Philistines: for I have looked upon my people, because their cry is come unto me. %%% Enkya nga mu kiseera kino nnaawereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri, era ye alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti: kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi. 09S1A009.017 And when Samuel saw Saul, the LORD said unto him, Behold the man whom I spake to thee of! this same shall reign over my people. %%% Awo Samwiri bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti Laba omusajja gwe nnakugambyeko! oyo ye aliba n'obuyinza ku bantu bange. 09S1A009.018 Then Saul drew near to Samuel in the gate, and said, Tell me, I pray thee, where the seer's house is. %%% Awo Sawulo n'asemberera Samwiri mu mulyango n'ayogera nti Mbuulira, nkwegayiridde, ennyumba ey'omulabi w'eri. 09S1A009.019 And Samuel answered Saul, and said, I am the seer: go up before me unto the high place; for ye shall eat with me to day, and to morrow I will let thee go, and will tell thee all that is in thine heart. %%% Samwiri n'addamu Sawulo n'ayogera nti Nze mulabi; yambuka okunkulembera mu kifo ekigulumivu, kubanga munaalya nange leero: awo enkya naakusiibula, ne nkubuulira byonna ebiri mu mutima gwo. 09S1A009.020 And as for thine asses that were lost three days ago, set not thy mind on them; for they are found. And on whom is all the desire of Israel? Is it not on thee, and on all thy father's house? %%% N'endogoyi zo ezaakamala ennaku ssatu okubula, tozeeraliikirira; kubanga zirabise. Era byonna ebyegombebwa mu Isiraeri biriba by'ani? tebiriba bibyo ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna? 09S1A009.021 And Saul answered and said, Am not I a Benjamite, of the smallest of the tribes of Israel? and my family the least of all the families of the tribe of Benjamin? wherefore then speakest thou so to me? %%% Sawulo n'addamu n'ayogera nti Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? n'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo? 09S1A009.022 And Samuel took Saul and his servant, and brought them into the parlour, and made them sit in the chiefest place among them that were bidden, which were about thirty persons. %%% Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omuddu we n'abayingiza mu nju ey'abagenyi n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo mu abo abaayitibwa, abantu ng'asatu. 09S1A009.023 And Samuel said unto the cook, Bring the portion which I gave thee, of which I said unto thee, Set it by thee. %%% Samwiri n'agamba omufumbiro nti Leeta omugabo gwe nkuwadde gwe nkugambyeko nti Gutereke. 09S1A009.024 And the cook took up the shoulder, and that which was upon it, and set it before Saul. And Samuel said, Behold that which is left! set it before thee, and eat: for unto this time hath it been kept for thee since I said, I have invited the people. So Saul did eat with Samuel that day. %%% Omufumbiro n'asitula ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'ayogera nti Laba ekyo ekiterekeddwa! kiteeke mu maaso go olye; kubanga kikuterekeddwa okutuusa ku biro ebyateekebwawo, kubanga nayogera nti Mpise abantu. Awo Sawulo n'alya ne Samwiri ku lunaku olwo. 09S1A009.025 And when they were come down from the high place into the city, Samuel communed with Saul upon the top of the house. %%% Awo bwe baali baserengese mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, n'ateesa ne Sawulo waggulu ku nnyumba. 09S1A009.026 And they arose early: and it came to pass about the spring of the day, that Samuel called Saul to the top of the house, saying, Up, that I may send thee away. And Saul arose, and they went out both of them, he and Samuel, abroad. %%% Ne bagolokoka mu makya: awo olwatuuka obudde nga bukya, Samwiri n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba ng'ayogera nti Golokoka, nkusindike ogende. Sawulo n'agolokoka ne bafuluma bombi, ye ne Samwiri. 09S1A009.027 And as they were going down to the end of the city, Samuel said to Saul, Bid the servant pass on before us, (and he passed on), but stand thou still a while, that I may shew thee the word of God. %%% Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti Lagira omuddu ayitemu atukulembere (n'ayitamu,) naye ggwe yimirira buyimirizi mu kiseera kino nkuwulize ekigambo kya Katonda. 09S1A010.001 Then Samuel took a vial of oil, and poured it upon his head, and kissed him, and said, Is it not because the LORD hath anointed thee to be captain over his inheritance? %%% Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'obusika bwe? 09S1A010.002 When thou art departed from me to day, then thou shalt find two men by Rachel's sepulchre in the border of Benjamin at Zelzah; and they will say unto thee, The asses which thou wentest to seek are found: and, lo, thy father hath left the care of the asses, and sorroweth for you, saying, What shall I do for my son? %%% Bw'onoova gye ndi leero, onoolaba abasajja babiri ku malaalo ga Laakeeri, mu nsalo ya Benyamini e Zereza; awo banaakugamba nti Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe ng'ayogera nti Naakola ntya olw'omwana wange? 09S1A010.003 Then shalt thou go on forward from thence, and thou shalt come to the plain of Tabor, and there shall meet thee three men going up to God to Bethel, one carrying three kids, and another carrying three loaves of bread, and another carrying a bottle of wine: %%% Awo onoovaayo ne weeyongera okugenda mu maaso n'otuuka awali omwera gwa Taboli, onoosiŋŋaanwa eyo abasajja basatu nga bambuka eri Katonda e Beseri, omu ng'atwala abaana b'embuzi basatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ekita eky'omwenge: 09S1A010.004 And they will salute thee, and give thee two loaves of bread; which thou shalt receive of their hands. %%% awo banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri: gy'oba otoola mu ngalo zaabwe. 09S1A010.005 After that thou shalt come to the hill of God, where is the garrison of the Philistines: and it shall come to pass, when thou art come thither to the city, that thou shalt meet a company of prophets coming down from the high place with a psaltery, and a tabret, and a pipe, and a harp, before them; and they shall prophesy: %%% N'olyoka otuuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo eky'Abafirisuuti: awo olunaatuuka, bw'onooba ng'otuuse eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaaba nga balagula: 09S1A010.006 And the Spirit of the LORD will come upon thee, and thou shalt prophesy with them, and shalt be turned into another man. %%% awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, n'olagulira wamu nabo, n'ofuuka okuba omuntu omulala. 09S1A010.007 And let it be, when these signs are come unto thee, that thou do as occasion serve thee; for God is with thee. %%% Awo olunaatuuka, obubonero obwo nga bukutuuseeko, okolanga ng'omukono gwo bwe gunaasanga bwe biri; kubanga Katonda ali naawe. 09S1A010.008 And thou shalt go down before me to Gilgal; and, behold, I will come down unto thee, to offer burnt offerings, and to sacrifice sacrifices of peace offerings: seven days shalt thou tarry, till I come to thee, and shew thee what thou shalt do. %%% Era ononkulembera n'oserengeta e Girugaali; nange, laba, ndiserengeta gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe: olimalayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola. 09S1A010.009 And it was so, that when he had turned his back to go from Samuel, God gave him another heart: and all those signs came to pass that day. %%% Awo olwatuuka bwe yakyusa amabega ge okuva Samwiri w'ali, Katonda n'amuwa omutima omulala: obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. 09S1A010.010 And when they came thither to the hill, behold, a company of prophets met him; and the Spirit of God came upon him, and he prophesied among them. %%% Awo bwe baatunkayo eri olusozi, laba, ekibiina kya bannabbi ne kisisinkana naye; omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye n'amaanyi, n'alagula mu bo. 09S1A010.011 And it came to pass, when all that knew him beforetime saw that, behold, he prophesied among the prophets, then the people said one to another, What is this that is come unto the son of Kish? Is Saul also among the prophets? %%% Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, laba, ng'alagulira wamu ne bannabbi, awo abantu nga bagambagana nti Kiki kino ekimujjiridde mutabani wa Kiisi? ne Sawulo ali mu bannabbi? 09S1A010.012 And one of the same place answered and said, But who is their father? Therefore it became a proverb, Is Saul also among the prophets? %%% Awo omuntu ow'omu kifo omwo n'addamu n'ayogera nti Ne kitaabwe ye ani? Kyerwava lufuuka olugero nti Ne Sawulo ali mu bannabbi? 09S1A010.013 And when he had made an end of prophesying, he came to the high place. %%% Awo bwe yamala okulagula n'ajja mu kifo ekigulumivu. 09S1A010.014 And Saul's uncle said unto him and to his servant, Whither went ye? And he said, To seek the asses: and when we saw that they were no where, we came to Samuel. %%% Awo kojja wa Sawulo n'amugamba ye n'omuddu we nti Mwagenda wa? Naayogera nti Okunoonya endogoyi: awo bwe twalaba nga tezirabise ne tujja eri Samwiri. 09S1A010.015 And Saul's uncle said, Tell me, I pray thee, what Samuel said unto you. %%% Kojja wa Sawulo n'ayogera nti Mbuulira, nkwegayiridde, Samwiri bye yabagamba. 09S1A010.016 And Saul said unto his uncle, He told us plainly that the asses were found. But of the matter of the kingdom, whereof Samuel spake, he told him not. %%% Sawulo n'agamba kojjaawe nti Yatubuulirira ddala ng'endogoyi zirabise. Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako. 09S1A010.017 And Samuel called the people together unto the LORD to Mizpeh; %%% Samwiri n'ayita abantu n'abakuŋŋaanyiza eri Mukama e Mizupa; 09S1A010.018 And said unto the children of Israel, Thus saith the LORD God of Israel, I brought up Israel out of Egypt, and delivered you out of the hand of the Egyptians, and out of the hand of all kingdoms, and of them that oppressed you: %%% n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Naggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga: 09S1A010.019 And ye have this day rejected your God, who himself saved you out of all your adversities and your tribulations; and ye have said unto him, Nay, but set a king over us. Now therefore present yourselves before the LORD by your tribes, and by your thousands. %%% naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti Nedda naye ssaawo kabaka atufuge. Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe bwe biri; era ng'enkumi zammwe bwe ziri. 09S1A010.020 And when Samuel had caused all the tribes of Israel to come near, the tribe of Benjamin was taken. %%% Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri; ekika kya Benyamini ne kitwalibwa. 09S1A010.021 When he had caused the tribe of Benjamin to come near by their families, the family of Matri was taken, and Saul the son of Kish was taken: and when they sought him, he could not be found. %%% N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri n'etwalibwa: Sawulo mutabani wa Kiisi n'atwalibwa; naye bwe baamunoonya, ne batayinza kumulaba. 09S1A010.022 Therefore they enquired of the LORD further, if the man should yet come thither. And the LORD answered, Behold, he hath hid himself among the stuff. %%% Awo ne beeyongera okubuuza Mukama nti Ekyasigaddeyo omusajja ow'okujja eno? Mukama n'addamu nti Laba, yeekwese mu bintu. 09S1A010.023 And they ran and fetched him thence: and when he stood among the people, he was higher than any of the people from his shoulders and upward. %%% Ne badduka mbiro ne bamuggyayo; awo bwe yayimirira mu bantu, ng'asinga abantu bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye n'okwambuka. 09S1A010.024 And Samuel said to all the people, See ye him whom the LORD hath chosen, that there is none like him among all the people? And all the people shouted, and said, God save the king. %%% Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu Bantu bonna? Abantu bonna ne boogerera waggulu ne boogera nti Kabaka abeere omulamu. 09S1A010.025 Then Samuel told the people the manner of the kingdom, and wrote it in a book, and laid it up before the LORD. And Samuel sent all the people away, every man to his house. %%% Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asindika abantu bonna bagende buli muntu mu nnyumba ye. 09S1A010.026 And Saul also went home to Gibeah; and there went with him a band of men, whose hearts God had touched. %%% Ne Sawulo naye n'agenda mu nnyumba e Gibea; ne wagenda naye eggye Katonda be yali akomyeko ku mitima gyabwe. 09S1A010.027 But the children of Belial said, How shall this man save us? And they despised him, and brought him no presents. But he held his peace. %%% Naye ne wabaawo abaana ba Beriali abaayogera nti Omusajja oyo alitulokola atya? Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika. 09S1A011.001 Then Nahash the Ammonite came up, and encamped against Jabeshgilead: and all the men of Jabesh said unto Nahash, Make a covenant with us, and we will serve thee. %%% Awo Nakkasi Omwamoni n'ayambuka n'asiisira okwolekera Yabesugireyaadi: abasajja bonna ab'e Yabesi ne bagamba Nakkasi nti Lagaana naffe endagaano, naffe tulikuweereza: 09S1A011.002 And Nahash the Ammonite answered them, On this condition will I make a covenant with you, that I may thrust out all your right eyes, and lay it for a reproach upon all Israel. %%% Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti Bwe ntyo bwe nnaalagaana nammwe, amaaso gammwe gonna aga ddyo gaggibwemu; nange ndikiteeka ku Isiraeri yenna okuba ekivume. 09S1A011.003 And the elders of Jabesh said unto him, Give us seven days' respite, that we may send messengers unto all the coasts of Israel: and then, if there be no man to save us, we will come out to thee. %%% Abakadde ab'e Yabesi ne bamugamba nti Tuwe ebbanga ery'ennaku musanvu tutume ababaka mu nsalo zonna eza Isiraeri: awo bwe wataliba ow'okutulokola, tulifuluma ne tujja gy'oli. 09S1A011.004 Then came the messengers to Gibeah of Saul, and told the tidings in the ears of the people: and all the people lifted up their voices, and wept. %%% Awo ababaka ne bajja e Gibea ekya Sawulo ne boogerera ebigambo ebyo mu matu g'abantu: awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga. 09S1A011.005 And, behold, Saul came after the herd out of the field; and Saul said, What aileth the people that they weep? And they told him the tidings of the men of Jabesh. %%% Awo, laba, Sawulo n'ajja ng'agoberera ente okuva mu nnimiro; Sawulo n'ayogera nti Abantu babadde batya okukaaba amaziga? Ne bamubuulira ebigambo by'abasajja ab'e Yabesi. 09S1A011.006 And the Spirit of God came upon Saul when he heard those tidings, and his anger was kindled greatly. %%% Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, bwe yawulira ebigambo ebyo, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. 09S1A011.007 And he took a yoke of oxen, and hewed them in pieces, and sent them throughout all the coasts of Israel by the hands of messengers, saying, Whosoever cometh not forth after Saul and after Samuel, so shall it be done unto his oxen. And the fear of the LORD fell on the people, and they came out with one consent. %%% Awo n'addira ente bbiri n'azitematema n'aziweereza okubuna ensalo zonna eza Isiraeri mu mikono gy'ababaka ng'ayogera nti Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa. Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu. 09S1A011.008 And when he numbered them in Bezek, the children of Israel were three hundred thousand, and the men of Judah thirty thousand. %%% N'ababalira e Bezeki; awo abaana ba Isiraeri baali obusiriivu busatu, n'abasajja ba Yuda baali obukumi busatu. 09S1A011.009 And they said unto the messengers that came, Thus shall ye say unto the men of Jabeshgilead, To morrow, by that time the sun be hot, ye shall have help. And the messengers came and shewed it to the men of Jabesh; and they were glad. %%% Ne bagamba ababaka abajja nti Bwe mutyo bwe munaagamba abasajja ab'e Yabesugireyaadi nti Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi. Ababaka ne bajja ne babuulira abasajja ab'e Yabesi; ne basanyuka. 09S1A011.010 Therefore the men of Jabesh said, To morrow we will come out unto you, and ye shall do with us all that seemeth good unto you. %%% Abasajja ab'e Yabesi kyebaava boogera nti Enkya tunaafuluma ne tujja gye muli mutukole byonna bye musiima. 09S1A011.011 And it was so on the morrow, that Saul put the people in three companies; and they came into the midst of the host in the morning watch, and slew the Ammonites until the heat of the day: and it came to pass, that they which remained were scattered, so that two of them were not left together. %%% Awo olwatuuka enkya Sawulo n'ayawulamu abantu ebibiina bisatu; ne batuuka wakati mu lusiisira mu kisisimuka eky'enkya, ne bakuba Abamoni okutuusa omusana lwe gwakaza: awo olwatuuka abaasigalawo ne basaasaana okusigala ne watasigala babiri ku bo abaali awamu. 09S1A011.012 And the people said unto Samuel, Who is he that said, Shall Saul reign over us? bring the men, that we may put them to death. %%% Abantu ne bagamba Samwiri nti Ani oyo eyayogera nti Sawulo alitufuga? leeta abasajja abo tubatte. 09S1A011.013 And Saul said, There shall not a man be put to death this day: for to day the LORD hath wrought salvation in Israel. %%% Sawulo n'ayogera nti Tewaabeewo muntu anattibwa leero: kubanga leero Mukama akoze obulokozi mu Isiraeri. 09S1A011.014 Then said Samuel to the people, Come, and let us go to Gilgal, and renew the kingdom there. %%% Awo Samwiri n'agamba abantu nti Mujje tugende e Girugaali, tunyweze eyo nate obwakabaka. 09S1A011.015 And all the people went to Gilgal; and there they made Saul king before the LORD in Gilgal; and there they sacrificed sacrifices of peace offerings before the LORD; and there Saul and all the men of Israel rejoiced greatly. %%% Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama e Girugaali; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo. 09S1A012.001 And Samuel said unto all Israel, Behold, I have hearkened unto your voice in all that ye said unto me, and have made a king over you. %%% Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti Laba, mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era nkoze kabaka okubafuga. 09S1A012.002 And now, behold, the king walketh before you: and I am old and grayheaded; and, behold, my sons are with you: and I have walked before you from my childhood unto this day. %%% Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe: nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe: era natambulira mu maaso ganunwe okuva mu buto bwange ne leero. 09S1A012.003 Behold, here I am: witness against me before the LORD, and before his anointed: whose ox have I taken? or whose ass have I taken? or whom have I defrauded? whom have I oppressed? or of whose hand have I received any bribe to blind mine eyes therewith? and I will restore it you. %%% Nze nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta: ani gwe nnanyagako ente ye? oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? ani gwe nnali njooze? oba ani gwe nnatoolako mu ngalo ze eaguzi okunzibya amaaso nange naabasasula. 09S1A012.004 And they said, Thou hast not defrauded us, nor oppressed us, neither hast thou taken ought of any man's hand. %%% Ne boogera nti Totulyazaamaanyanga so totujooganga, so totoolanga kintu mu ngalo z'omuntu yenna. 09S1A012.005 And he said unto them, The LORD is witness against you, and his anointed is witness this day, that ye have not found ought in my hand. And they answered, He is witness. %%% N'abagamba nti Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero nga mmwe temulabye kintu mu mukono gwange. Ne boogera nti Ye mujulirwa. 09S1A012.006 And Samuel said unto the people, It is the LORD that advanced Moses and Aaron, and that brought your fathers up out of the land of Egypt. %%% Samwiri n'agamba abantu nti Ye Mukama eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri. 09S1A012.007 Now therefore stand still, that I may reason with you before the LORD of all the righteous acts of the LORD, which he did to you and to your fathers. %%% Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mpoze nammwe mu maaso ga Mukama olw'ebikolwa byonna eby'obutuukirivu ebya Mukama bye yakola mmwe ne bajjajjammwe. 09S1A012.008 When Jacob was come into Egypt, and your fathers cried unto the LORD, then the LORD sent Moses and Aaron, which brought forth your fathers out of Egypt, and made them dwell in this place. %%% Yakobo bwe yali atuuse mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni eyaggya bajjajjammwe mu Misiri n'abatuuza mu kifo muno. 09S1A012.009 And when they forgat the LORD their God, he sold them into the hand of Sisera, captain of the host of Hazor, and into the hand of the Philistines, and into the hand of the king of Moab, and they fought against them. %%% Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abatunda mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo. 09S1A012.010 And they cried unto the LORD, and said, We have sinned, because we have forsaken the LORD, and have served Baalim and Ashtaroth: but now deliver us out of the hand of our enemies, and we will serve thee. %%% Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze. 09S1A012.011 And the LORD sent Jerubbaal, and Bedan, and Jephthah, and Samuel, and delivered you out of the hand of your enemies on every side, and ye dwelled safe. %%% Awo Mukama n'atuma Yerubbaali ne Bedani ne Yefusa ne Samwiri, n'abalokola mu mukono gw'abalabe bammwe enjuyi zonna, ne mutuula mirembe. 09S1A012.012 And when ye saw that Nahash the king of the children of Ammon came against you, ye said unto me, Nay; but a king shall reign over us: when the LORD your God was your king. %%% Awo bwe mwalaba nga Nakkasi kabaka w'abaana ba Amoni ng'abatabadde, ne muŋŋamba nti Nedda, naye kabaka ye alitufuga: Mukama Katonda wammwe nga ye kabaka wammwe. 09S1A012.013 Now therefore behold the king whom ye have chosen, and whom ye have desired! and, behold, the LORD hath set a king over you. %%% Kale nno kaakano laba kabaka gwe mulonze era gwe musabye: era, laba, Mukama ataddewo kabaka okubafuga. 09S1A012.014 If ye will fear the LORD, and serve him, and obey his voice, and not rebel against the commandment of the LORD, then shall both ye and also the king that reigneth over you continue following the LORD your God: %%% Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne muwuliranga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kya Mukama, mmwe era ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe; kale: 09S1A012.015 But if ye will not obey the voice of the LORD, but rebel against the commandment of the LORD, then shall the hand of the LORD be against you, as it was against your fathers. %%% naye bwe mutaawulirenga ddoboozi lya Mukama, naye ne mujeemeranga ekiragiro kya Mukama, awo omukono gwa Mukama gunaalwananga nammwe nga bwe gwalwananga ne bajjajjammwe. 09S1A012.016 Now therefore stand and see this great thing, which the LORD will do before your eyes. %%% Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mulabe ekigambo kino ekikulu Mukama ky'anaakolera mu maaso gammwe. 09S1A012.017 Is it not wheat harvest to day? I will call unto the LORD, and he shall send thunder and rain; that ye may perceive and see that your wickedness is great, which ye have done in the sight of the LORD, in asking you a king. %%% Leero si ge makungula g'eŋŋaano? Naasaba Mukama aweereze okubwatuka n'enkuba: awo munaamanya ne mulaba ng'obubi bwammwe bunene bwe mwakola mu maaso ga Mukama nga mwesabira kabaka. 09S1A012.018 So Samuel called unto the LORD; and the LORD sent thunder and rain that day: and all the people greatly feared the LORD and Samuel. %%% Awo Samwiri n'asaba Mukama; Mukama n'aweereza okubwatuka n'enkuba ku lunaku olwo: abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri. 09S1A012.019 And all the people said unto Samuel, Pray for thy servants unto the LORD thy God, that we die not: for we have added unto all our sins this evil, to ask us a king. %%% Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa: kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, okwesabira kabaka. 09S1A012.020 And Samuel said unto the people, Fear not: ye have done all this wickedness: yet turn not aside from following the LORD, but serve the LORD with all your heart; %%% Samwiri n'agamba abantu nti Temutya: okukola mwakola ekibi kino kyonna: naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna; 09S1A012.021 And turn ye not aside: for then should ye go after vain things, which cannot profit nor deliver; for they are vain. %%% so temukyamanga: kubanga kwe kwandibadde okugoberera ebitaliimu ebitayinza kugasa newakubadde okulokola, kubanga tebiriimu. 09S1A012.022 For the LORD will not forsake his people for his great name's sake: because it hath pleased the LORD to make you his people. %%% Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu: kubanga Mukama yasiima okubeefuulira yekka eggwanga. 09S1A012.023 Moreover as for me, God forbid that I should sin against the LORD in ceasing to pray for you: but I will teach you the good and the right way: %%% Era nze kiddire eri nze okusobya ku Mukama nga ndekayo okubasabira: naye naabayigirizanga ekkubo eddungi eggolokofu. 09S1A012.024 Only fear the LORD, and serve him in truth with all your heart: for consider how great things he hath done for you. %%% Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna: kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu. 09S1A012.025 But if ye shall still do wickedly, ye shall be consumed, both ye and your king. %%% Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mulizikirira mmwe era ne kabaka wammwe. 09S1A013.001 Saul reigned one year; and when he had reigned two years over Israel, %%% Sawulo yali nga yaakamaze emyaka asatu bwe yatanula okufuga; n'afugira Isiraeri emyaka ebiri. 09S1A013.002 Saul chose him three thousand men of Israel; whereof two thousand were with Saul in Michmash and in mount Bethel, and a thousand were with Jonathan in Gibeah of Benjamin: and the rest of the people he sent every man to his tent. %%% Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu; ku abo enkumi bbiri baabanga ne Sawulo e Mikumasi ne ku lusozi olw'e Beseri; n'olukumi baabanga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini: n'abantu abalala bonna n'abasindika buli muntu mu weema ye. 09S1A013.003 And Jonathan smote the garrison of the Philistines that was in Geba, and the Philistines heard of it. And Saul blew the trumpet throughout all the land, saying, Let the Hebrews hear. %%% Yonasaani n'akuba ekigo eky'Abafirisuuti ekyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna ensi yonna, ng'ayogera nti Abaebbulaniya bawulire. 09S1A013.004 And all Israel heard say that Saul had smitten a garrison of the Philistines, and that Israel also was had in abomination with the Philistines. And the people were called together after Saul to Gilgal. %%% Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo. 09S1A013.005 And the Philistines gathered themselves together to fight with Israel, thirty thousand chariots, and six thousand horsemen, and people as the sand which is on the sea shore in multitude: and they came up, and pitched in Michmash, eastward from Bethaven. %%% Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okulwana ne Isiraeri, amagaali obukumi busatu, n'abasajja abeebagala embalaasi kakaaga, n'abantu abaali ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi: ne bambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Besaveni. 09S1A013.006 When the men of Israel saw that they were in a strait, (for the people were distressed,) then the people did hide themselves in caves, and in thickets, and in rocks, and in high places, and in pits. %%% Awo abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga bali bubi (kubanga abantu baali balabye ennaku,) awo abantu ne beekweka mu mpuku ne mu bisaka ne mu mayinja ne mu mpampagama ne mu bunnya. 09S1A013.007 And some of the Hebrews went over Jordan to the land of Gad and Gilead. As for Saul, he was yet in Gilgal, and all the people followed him trembling. %%% Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi: naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana: 09S1A013.008 And he tarried seven days, according to the set time that Samuel had appointed: but Samuel came not to Gilgal; and the people were scattered from him. %%% N'amala ennaku musanvu ng'ebiro bwe byali Samwiri bye yateekawo: naye Samwiri nga tannajja e Girugaali; abantu ne basaasaana nga bamuvaako. 09S1A013.009 And Saul said, Bring hither a burnt offering to me, and peace offerings. And he offered the burnt offering. %%% Sawulo n'ayogera nti Ndeetera wano ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe: Naawaayo ekiweebwayo ekyokebwa. 09S1A013.010 And it came to pass, that as soon as he had made an end of offering the burnt offering, behold, Samuel came; and Saul went out to meet him, that he might salute him. %%% Awo olwatuuka nga kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, laba, Samwiri n'ajja; Sawulo n'afuluma okumusisinkana amulamuse. 09S1A013.011 And Samuel said, What hast thou done? And Saul said, Because I saw that the people were scattered from me, and that thou camest not within the days appointed, and that the Philistines gathered themselves together at Michmash; %%% Samwiri n'ayogera nti Okoze ki? Sawulo n'ayogera nti Kubanga nalabye ng'abantu basaasaanye nga banvaako so naawe nga tojja mu biro ebyateekebwawo n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi; 09S1A013.012 Therefore said I, The Philistines will come down now upon me to Gilgal, and I have not made supplication unto the LORD: I forced myself therefore, and offered a burnt offering. %%% kyennavudde njogera nti Abafirisuuti banaaserengeta e Girugaali okulwana nange, so sinnaba kwegayirira kisa kya Mukama: kyennavudde neegumiikiriza n'empaayo ekiweebwayo ekyokebwa. 09S1A013.013 And Samuel said to Saul, Thou hast done foolishly: thou hast not kept the commandment of the LORD thy God, which he commanded thee: for now would the LORD have established thy kingdom upon Israel for ever. %%% Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Wakoze kya busirusiru: tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira: kubanga kaakano Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isiraeri ennaku zonna. 09S1A013.014 But now thy kingdom shall not continue: the LORD hath sought him a man after his own heart, and the LORD hath commanded him to be captain over his people, because thou hast not kept that which the LORD commanded thee. %%% Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera: Mukama yeenoonyerezza omusajja aliŋŋanga omutima gwe ye, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w'abantu be, kubanga tokutte ekyo Mukama kye yakulagira. 09S1A013.015 And Samuel arose, and gat him up from Gilgal unto Gibeah of Benjamin. And Saul numbered the people that were present with him, about six hundred men. %%% Awo Samwiri n'agolokoka n'ava e Girugaali n'ayambuka e Gibea ekya Benyamini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga. 09S1A013.016 And Saul, and Jonathan his son, and the people that were present with them, abode in Gibeah of Benjamin: but the Philistines encamped in Michmash. %%% Sawulo ne Yonasaani mutabani we n'abantu abaali awamu nabo ne batuula e Geba ekya Benyamini: naye Abafirisuuti ne basiisira e Mikumasi. 09S1A013.017 And the spoilers came out of the camp of the Philistines in three companies: one company turned unto the way that leadeth to Ophrah, unto the land of Shual: %%% Abakwekwesi ne bava mu lusiisira olw'Abafirisuuti ebibiina bisatu: ekibiina ekimu ne badda mu kkubo erigenda e Yofula, mu nsi ya Suwaali: 09S1A013.018 And another company turned the way to Bethhoron: and another company turned to the way of the border that looketh to the valley of Zeboim toward the wilderness. %%% n'ekibiina ekirala ne badda mu kkubo erigenda e Besukolooni: n'ekibiina ekirala ne badda mu kkubo ery'ensalo w'oyima waggulu okutunuulira ekiwomvu Zeboyimu ku luuyi olw'eddungu. 09S1A013.019 Now there was no smith found throughout all the land of Israel: for the Philistines said, Lest the Hebrews make them swords or spears: %%% Awo newatalabika muweesi mu nsi yonna eya Isiraeri: kubanga Abafirisuuti baayogera nti Abaebbulaniya baleme okweweeseza ebitala oba mafumu: 09S1A013.020 But all the Israelites went down to the Philistines, to sharpen every man his share, and his coulter, and his axe, and his mattock. %%% naye Abaisiraeri bonna ne baserengeta eri Abafirisuuti okuwagala buli muntu enkumbi ye n'ekiwabyo kye n'embazzi ye n'ekifumu kye; 09S1A013.021 Yet they had a file for the mattocks, and for the coulters, and for the forks, and for the axes, and to sharpen the goads. %%% naye baalina muyamba olw'ebifumu n'ebiwabyo n'amakato n'embazzi; n'olw'okuwagala emiwunda. 09S1A013.022 So it came to pass in the day of battle, that there was neither sword nor spear found in the hand of any of the people that were with Saul and Jonathan: but with Saul and with Jonathan his son was there found. %%% Awo olwatuuka mu biro eby'entalo ne watalabika kitala newakubadde effumu mu mukono gw'omuntu yenna ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani: naye Sawulo ne Yonasaani mutabani we be baalina. 09S1A013.023 And the garrison of the Philistines went out to the passage of Michmash. %%% N'Abafirisuuti ab'omu kigo ne bafuluma ne bagenda awayitibwa mu Mikumasi. 09S1A014.001 Now it came to pass upon a day, that Jonathan the son of Saul said unto the young man that bare his armour, Come, and let us go over to the Philistines' garrison, that is on the other side. But he told not his father. %%% Awo olunaku lwali lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'Abafirisuuti ekiri emitala w'eri. Naye n'atabuulira kitaawe. 09S1A014.002 And Saul tarried in the uttermost part of Gibeah under a pomegranate tree which is in Migron: and the people that were with him were about six hundred men; %%% Sawulo n'abeera mu kitundu eky'e Gibea eky'enkomerero munda w'omukomamawanga oguli e Miguloni: n'abantu abaali naye baali abasajja nga lukaaga; 09S1A014.003 And Ahiah, the son of Ahitub, Ichabod's brother, the son of Phinehas, the son of Eli, the LORD's priest in Shiloh, wearing an ephod. And the people knew not that Jonathan was gone. %%% ne Akiya, mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro, ng'ayambadde ekkanzu. Abantu ne batamanya nga Yonasaani agenze. 09S1A014.004 And between the passages, by which Jonathan sought to go over unto the Philistines' garrison, there was a sharp rock on the one side, and a sharp rock on the other side: and the name of the one was Bozez, and the name of the other Seneh. %%% Awo wakati awayitibwa Yonasaani we yali ayagala okufuluma okutuuka mu kigo eky'Abafirisuuti, waaliwo ejjinja essongovu eruuyi n'ejjinja essongovu eruuyi: n'erimu erinnya lyalyo Bozezi, n'eddala erinnya lyalyo Sene. 09S1A014.005 The forefront of the one was situate northward over against Michmash, and the other southward over against Gibeah. %%% Ejjinja erimu lyali liyimiridde ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okwolekera Mikumasi, n'eddala ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo okwolekera Gibea. 09S1A014.006 And Jonathan said to the young man that bare his armour, Come, and let us go over unto the garrison of these uncircumcised: it may be that the LORD will work for us: for there is no restraint to the LORD to save by many or by few. %%% Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'abatali bakomole bano: mpozzi Mukama anaatukolera omulimu: kubanga Mukama tewali kimuziyiza okulokola n'abangi oba n'abatono. 09S1A014.007 And his armourbearer said unto him, Do all that is in thine heart: turn thee; behold, I am with thee according to thy heart. %%% Eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'amugamba nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo; kyuka, laba, nze ndi wamu naawe ng'omutima gwo bwe guli. 09S1A014.008 Then said Jonathan, Behold, we will pass over unto these men, and we will discover ourselves unto them. %%% Awo Yonasaani n'ayogera nti Laba, tunaasomoka ne tugenda eri abasajja ne tweyerula gye bali. 09S1A014.009 If they say thus unto us, Tarry until we come to you; then we will stand still in our place, and will not go up unto them. %%% Bwe banaatugamba nti Mubeere eyo okutuusa bwe tunajja gye muli; awo tunaayimirira buyimirizi mu kifo kyaffe ne tutayambuka gye bali. 09S1A014.010 But if they say thus, Come up unto us; then we will go up: for the LORD hath delivered them into our hand: and this shall be a sign unto us. %%% Naye bwe banaayogera nti Mujje gye tuli; awo tunaayambuka: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwaffe: era ako ke kanaabeera akabonero gye tuli. 09S1A014.011 And both of them discovered themselves unto the garrison of the Philistines: and the Philistines said, Behold, the Hebrews come forth out of the holes where they had hid themselves. %%% Awo bombi ne beeyerula eri ekigo eky'Abafirisuuti: Abafirisuuti ne boogera nti Laba, Abaebbulaniya bafuluma mu bunnya mwe baali beekwese. 09S1A014.012 And the men of the garrison answered Jonathan and his armourbearer, and said, Come up to us, and we will shew you a thing. And Jonathan said unto his armourbearer, Come up after me: for the LORD hath delivered them into the hand of Israel. %%% Abasajja ab'omu kigo ne baddamu Yonasaani n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ne boogera nti Mwambuke gye tuli tubalage ekigambo. Awo Yonasaani n'agamba eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Yambuka ongoberere: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwa Isiraeri. 09S1A014.013 And Jonathan climbed up upon his hands and upon his feet, and his armourbearer after him: and they fell before Jonathan; and his armourbearer slew after him. %%% Awo Yonasaani n'alinnya ng'ayavula n'engalo n'ebigere n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ng'amugoberera: ne bagwa mu maaso ga Yonasaani; n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'abatta ng'amuvaako nnyuma. 09S1A014.014 And that first slaughter, which Jonathan and his armourbearer made, was about twenty men, within as it were an half acre of land, which a yoke of oxen might plow. %%% Era olutta olwo olw'olubereberye Yonasaani n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye lwe batta lwali lwa basajja ng'amakumi abiri, n'ebbanga lyali nga kitundu kya lubimbi mu musiri gw'ettaka. 09S1A014.015 And there was trembling in the host, in the field, and among all the people: the garrison, and the spoilers, they also trembled, and the earth quaked: so it was a very great trembling. %%% Ne wabaawo okukankana mu lusiisira ne mu nnimiro ne mu bantu bonna; ab'omu kigo n'abakwekwesi ne bakankana nabo: ensi n’ekankana awo ne wabaawo okukankana okunene enyo. 09S1A014.016 And the watchmen of Saul in Gibeah of Benjamin looked; and, behold, the multitude melted away, and they went on beating down one another. %%% N'abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea ekya Benyamini ne batunula; awo, laba, ekibiina ne kisereba, ne bagenda eruuyi n'eruuyi. 09S1A014.017 Then said Saul unto the people that were with him, Number now, and see who is gone from us. And when they had numbered, behold, Jonathan and his armourbearer were not there. %%% Awo Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti Mubale kaakano, mulabe bw'ali atuvuddemu. Awo bwe baabala, laba, Yonasaani n'eyatwalanga ebyokulwaayisa bye nga tebaliiwo. 09S1A014.018 And Saul said unto Ahiah, Bring hither the ark of God. For the ark of God was at that time with the children of Israel. %%% Sawulo n'agamba Akiya nti Leeta eno ssanduuko ya Katonda. Kubanga essanduuko ya Katonda yali eyo mu biro ebyo wamu n'abaana ba Isiraeri. 09S1A014.019 And it came to pass, while Saul talked unto the priest, that the noise that was in the host of the Philistines went on and increased: and Saul said unto the priest, Withdraw thine hand. %%% Awo olwatuuka, Sawulo ng'ayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne lubaawo ne lweyongera: Sawulo n'agamba kabona nti Zzaayo omukono gwo. 09S1A014.020 And Saul and all the people that were with him assembled themselves, and they came to the battle: and, behold, every man's sword was against his fellow, and there was a very great discomfiture. %%% Awo Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne bajja okulwana: awo laba, ekitala kya buli muntu ne kirwana ne munne ne waba okukeŋŋentererwa okunene ennyo. 09S1A014.021 Moreover the Hebrews that were with the Philistines before that time, which went up with them into the camp from the country round about, even they also turned to be with the Israelites that were with Saul and Jonathan. %%% Awo Abaebbulaniya abaali n'Abafirisuuti ng'edda, abaayambuka nabo mu lusiisira okuva mu nsi eyeetooloola; era nabo ne bakyuka okuba n'Abaisiraeri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. 09S1A014.022 Likewise all the men of Israel which had hid themselves in mount Ephraim, when they heard that the Philistines fled, even they also followed hard after them in the battle. %%% Era bwe batyo n'abasajja bonna aba Isiraeri abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, bwe baawulira Abafirisuuti nga badduse, era nabo ne babagobererera ddala mu lutalo. 09S1A014.023 So the LORD saved Israel that day: and the battle passed over unto Bethaven. %%% Awo Mukama n'alokola bw'atyo Isiraeri ku lunaku olwo: olutalo ne luggukira e Besaveni. 09S1A014.024 And the men of Israel were distressed that day: for Saul had adjured the people, saying, Cursed be the man that eateth any food until evening, that I may be avenged on mine enemies. So none of the people tasted any food. %%% Abantu ba Isiraeri ne balaba ennaku ku lunaku olwo: naye Sawulo n'alayiza abantu ng'ayogera nti Omuntu akolimirwe anaalya ku mmere yonna okutuusa akawungeezi, nange nga mmaze okuwalana eggwanga ku balabe bange: Awo abantu ne batalega ku mmere n'omu. 09S1A014.025 And all they of the land came to a wood; and there was honey upon the ground. %%% Abantu bonna ne batuuka mu kibira; era waaliwo omubisi gw'enjuki wansi. 09S1A014.026 And when the people were come into the wood, behold, the honey dropped; but no man put his hand to his mouth: for the people feared the oath. %%% Awo abantu bwe baali batuuse mu kibira, laba, omubisi gw'enjuki nga gutonnya: naye ne wataba muntu eyateeka engalo ze ku mumwa; kubanga abantu baatya ekirayiro. 09S1A014.027 But Jonathan heard not when his father charged the people with the oath: wherefore he put forth the end of the rod that was in his hand, and dipped it in an honeycomb, and put his hand to his mouth; and his eyes were enlightened. %%% Naye Yonasaani teyawulira kitaawe bwe yalayiza abantu ekirayiro: kyeyava agolola omusa gw'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'agunnyika mu bisenge by'enjuki, n’ateeka engalo ze ku mumwa; amaaso ge ne galaba bulungi. 09S1A014.028 Then answered one of the people, and said, Thy father straitly charged the people with an oath, saying, Cursed be the man that eateth any food this day. And the people were faint. %%% Awo omu ku bantu n'addamu n'ayogera nti Kitaawo yakuutira abantu ng'abalayiza ekirayiro ng'ayogera nti Akolimirwe omuntu anaalya ku mmere leero. Abantu ne bayongobera. 09S1A014.029 Then said Jonathan, My father hath troubled the land: see, I pray you, how mine eyes have been enlightened, because I tasted a little of this honey. %%% Awo Yonasaani n'ayogera nti Kitange anakuwazizza ensi: laba, nkwegayiridde, amaaso gange bwe galabye obulungi, kubanga ndezeeko katono ku mubisi guno ogw'enjuki. 09S1A014.030 How much more, if haply the people had eaten freely to day of the spoil of their enemies which they found? for had there not been now a much greater slaughter among the Philistines? %%% Tebandisinze nnyo abantu singa balidde leero ku munyago ogw'abalabe baabwe gwe balabye ne bakkuta? kubanga kaakano tewabadde lutta lunene mu Bafirisuuti. 09S1A014.031 And they smote the Philistines that day from Michmash to Aijalon: and the people were very faint. %%% Ne batta ku Bafirisuuti ku lunaku olwo okuva e Mikumasi okutuuka ku Ayalooni: abantu ne bayongobera nnyo. 09S1A014.032 And the people flew upon the spoil, and took sheep, and oxen, and calves, and slew them on the ground: and the people did eat them with the blood. %%% Awo abantu ne bagwa ku munyago, ne banyaga endiga n'ente n'ennyana ne bazittira awo: abantu ne bazirya awamu n'omusaayi. 09S1A014.033 Then they told Saul, saying, Behold, the people sin against the LORD, in that they eat with the blood. And he said, Ye have transgressed: roll a great stone unto me this day. %%% Awo ne bamubuulira Sawulo nga boogera nti Laba, abantu basobya ku Mukama kubanga balya wamu n'omusaayi. N'ayogera nti Mukuusizza: munjiringisize ejjinja eddene leero. 09S1A014.034 And Saul said, Disperse yourselves among the people, and say unto them, Bring me hither every man his ox, and every man his sheep, and slay them here, and eat; and sin not against the LORD in eating with the blood. And all the people brought every man his ox with him that night, and slew them there. %%% Sawulo n'ayogera nti Musaasaane mu bantu, mubagambe nti Mundeetere wano buli muntu ente ye na buli muntu endiga ye, muzittire wano mulye: so temusobya ku Mukama nga mulya omusaayi. Abantu bonna ne baleeta buli muntu ente ye wamu naye ekiro ekyo ne bazittira eyo. 09S1A014.035 And Saul built an altar unto the LORD: the same was the first altar that he built unto the LORD. %%% Sawulo n'azimbira Mukama ekyoto: ekyo kye kyali ekyoto eky'olubereberye kye yazimbira Mukama. 09S1A014.036 And Saul said, Let us go down after the Philistines by night, and spoil them until the morning light, and let us not leave a man of them. And they said, Do whatsoever seemeth good unto thee. Then said the priest, Let us draw near hither unto God. %%% Awo Sawulo n'ayogera nti Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro, tubanyage okutuusa emmambya lw'eneesala, tuleme okusigaza omuntu ku bo. Ne boogera nti Kola kyonna kyonna ky'osiima. Awo kabona n'ayogera nti Tusemberere Katonda wano. 09S1A014.037 And Saul asked counsel of God, Shall I go down after the Philistines? wilt thou deliver them into the hand of Israel? But he answered him not that day. %%% Sawulo n'abuuza Katonda amagezi nti Nserengete okugoberera Abafirisuuti? onoobagabula mu mukono gwa Isiraeri? Naye n'atamuddamu ku lunaku olwo. 09S1A014.038 And Saul said, Draw ye near hither, all the chief of the people: and know and see wherein this sin hath been this day. %%% Sawulo n'ayogera nti Musembere wano, mmwe mwenna abakulu b'abantu: mutegeere mulabe ekibi kino bwe kibadde leero. 09S1A014.039 For, as the LORD liveth, which saveth Israel, though it be in Jonathan my son, he shall surely die. But there was not a man among all the people that answered him. %%% Kubanga Mukama alokola Isiraeri nga bw'ali omulamu, newakubadde nga kibadde mu Yonasaani mutabani wange, taaleme kufa. Naye ne wataba muntu n'omu mu bantu bonna eyamuddamu. 09S1A014.040 Then said he unto all Israel, Be ye on one side, and I and Jonathan my son will be on the other side. And the people said unto Saul, Do what seemeth good unto thee. %%% Awo n'agamba Isiraeri yenna nti Mmwe mubeere ku luuyi lumu, nange ne Yonasaani mutabani wange tunaaba ku luuyi olulala. Abantu ne bagamba Sawulo nti Kola nga bw'osiima. 09S1A014.041 Therefore Saul said unto the LORD God of Israel, Give a perfect lot. And Saul and Jonathan were taken: but the people escaped. %%% Sawulo kyeyava agamba Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Laga eby'ensonga. Awo akalulu ne kabagwako Sawulo ne Yonasaani; naye abantu ne bawona. 09S1A014.042 And Saul said, Cast lots between me and Jonathan my son. And Jonathan was taken. %%% Sawulo n'ayogera nti Mukubire nze ne Yonasaani mutabani wange. Ne kamugwako Yonasaani. 09S1A014.043 Then Saul said to Jonathan, Tell me what thou hast done. And Jonathan told him, and said, I did but taste a little honey with the end of the rod that was in mine hand, and, lo, I must die. %%% Awo Sawulo n'agamba Yonasaani nti Mbuulira by'okoze. Yonasaani n'amubuulira n'ayogera nti Okulega naleze ku tubisi tw'enjuki n'omusa gw'omuggo ogubadde mu mukono gwange; kale, laba, kiŋŋwanidde okufa. 09S1A014.044 And Saul answered, God do so and more also: for thou shalt surely die, Jonathan. %%% Sawulo n'ayogera nti Katonda akole bw'atyo n'okukirawo: kubanga tooleme kufa, Yonasaani. 09S1A014.045 And the people said unto Saul, Shall Jonathan die, who hath wrought this great salvation in Israel? God forbid: as the LORD liveth, there shall not one hair of his head fall to the ground; for he hath wrought with God this day. So the people rescued Jonathan, that he died not. %%% Abantu ne bagamba Sawulo nti Yonasaani anaafa akoze obulokozi buno obukulu mu Isiraeri? Kiddire eri: nga Mukama bw'ali omulamu, tewaliba ku nviiri ze na lumu olunaagwa wansi: kubanga akoledde wamu ne Katonda leero. Awo abantu ne banunula bwe batyo Yonasaani, n'atafa. 09S1A014.046 Then Saul went up from following the Philistines: and the Philistines went to their own place. %%% Awo Sawulo n'aleka okugoberera Abafirisuuti n'ayambuka: Abafirisuuti ne baddayo ewaabwe. 09S1A014.047 So Saul took the kingdom over Israel, and fought against all his enemies on every side, against Moab, and against the children of Ammon, and against Edom, and against the kings of Zobah, and against the Philistines: and whithersoever he turned himself, he vexed them. %%% Awo Sawulo bwe yamala okulya obwakabaka bwa Isiraeri, n'alwana n'abalabe be bonna enjuyi zonna, Mowaabu n'abaana ba Amoni ne Edomu ne bakabaka ba Zoba n'Abafirisuuti: awo n'abeeraliikirizanga buli gye yakyukanga yonna. 09S1A014.048 And he gathered an host, and smote the Amalekites, and delivered Israel out of the hands of them that spoiled them. %%% N'akola eby'obuzira n'akuba Abamaleki, n'alokola Isiraeri mu mikono gy'abo abaabanyaganga. 09S1A014.049 Now the sons of Saul were Jonathan, and Ishui, and Melchishua: and the names of his two daughters were these; the name of the firstborn Merab, and the name of the younger Michal: %%% Ne batabani ba Sawulo baali Yonasaani ne Isuvi ne Malukisuwa: n'amannya ga bawala be ababiri gaagano; omubereberye eritmya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali: 09S1A014.050 And the name of Saul's wife was Ahinoam, the daughter of Ahimaaz: and the name of the captain of his host was Abner, the son of Ner, Saul's uncle. %%% ne mukazi wa Sawulo erinnya lye yali Akinoamu omwana wa Akimaazi: n'omukulu w'eggye lye erinnya lye yali Abuneeri mutabani wa Neeri muganda wa kitaawe wa Sawulo. 09S1A014.051 And Kish was the father of Saul; and Ner the father of Abner was the son of Abiel. %%% Ne Kiisi yali kitaawe wa Sawulo; ne Neeri kitaawe wa Abuneeri yali mutabani wa Abiyeeri. 09S1A014.052 And there was sore war against the Philistines all the days of Saul: and when Saul saw any strong man, or any valiant man, he took him unto him. %%% Awo ne balwana nnyo nnyini n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Sawulo: awo Sawulo bwe yalabanga omuntu yenna ow'amaanyi oba omuzira yenna, n'amwesenzezanga. 09S1A015.001 Samuel also said unto Saul, The LORD sent me to anoint thee to be king over his people, over Israel: now therefore hearken thou unto the voice of the words of the LORD. %%% Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Mukama Yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri: kale nno kaakano wulira eddoboozi ly'ebigambo bya Mukama. 09S1A015.002 Thus saith the LORD of hosts, I remember that which Amalek did to Israel, how he laid wait for him in the way, when he came up from Egypt. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nekkaanya ebyo Amaleki bye yakola Isiraeri, bwe yeesimbawo okumuziyiza mu kkubo, bwe yalinnya okuva mu Misiri. 09S1A015.003 Now go and smite Amalek, and utterly destroy all that they have, and spare them not; but slay both man and woman, infant and suckling, ox and sheep, camel and ass. %%% Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi omwana omuwere n’ayonka, ente n’endiga, eŋŋaamira n’endogoyi. 09S1A015.004 And Saul gathered the people together, and numbered them in Telaim, two hundred thousand footmen, and ten thousand men of Judah. %%% Awo Sawulo n'ayita abantu n'ababalira e Terayimu, abasajja abatambula n'ebigere obusiriivu bubiri, n'abasajja ba Yuda kakumi. 09S1A015.005 And Saul came to a city of Amalek, and laid wait in the valley. %%% Sawulo n'atuuka ku kibuga kya Amaleki n'ateegera mu kiwonvu. 09S1A015.006 And Saul said unto the Kenites, Go, depart, get you down from among the Amalekites, lest I destroy you with them: for ye shewed kindness to all the children of Israel, when they came up out of Egypt. So the Kenites departed from among the Amalekites. %%% Sawulo n'agamba Abakeeni nti Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu nabo: kubanga mwakola eby'ekisa abaana ba Isiraeri bonna, bwe baava mu Misiri. Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki. 09S1A015.007 And Saul smote the Amalekites from Havilah until thou comest to Shur, that is over against Egypt. %%% Sawulo n'akuba Abamaleki; okuva e Kavira ng'ogenda e Ssuuli, ekyolekera Misiri. 09S1A015.008 And he took Agag the king of the Amalekites alive, and utterly destroyed all the people with the edge of the sword. %%% N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'azikiririza ddala abantu bonna n'obwogi bw'ekitala. 09S1A015.009 But Saul and the people spared Agag, and the best of the sheep, and of the oxen, and of the fatlings, and the lambs, and all that was good, and would not utterly destroy them: but every thing that was vile and refuse, that they destroyed utterly. %%% Naye Sawulo n'abantu ne basonyiwa Agagi n'endiga ezaasinga obulungi n'ente n'ebya ssava n'abaana b'endiga n'ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala: naye ebibi byonna era ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala. 09S1A015.010 Then came the word of the LORD unto Samuel, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Samwiri ng'ayogera nti 09S1A015.011 It repenteth me that I have set up Saul to be king: for he is turned back from following me, and hath not performed my commandments. And it grieved Samuel; and he cried unto the LORD all night. %%% Nejjusizza kubanga nakuza Sawulo okuba kabaka: kubanga azzeeyo ennyuma obutangoberera so takoze biragiro byange. Awo Samwiri n'asunguwala; n'akaabira Mukama okukeesa obudde. 09S1A015.012 And when Samuel rose early to meet Saul in the morning, it was told Samuel, saying, Saul came to Carmel, and, behold, he set him up a place, and is gone about, and passed on, and gone down to Gilgal. %%% Awo Samwiri n'agolokoka mu makya okusisinkana ne Sawulo enkya; ne bamubuulira Samwiri nti Sawulo yatuuka ku Kalumeeri, era, laba, ne yeesimbira ekijjukizo, n'akyuka n'ayitamu n'aserengeta e Girugaali. 09S1A015.013 And Samuel came to Saul: and Saul said unto him, Blessed be thou of the LORD: I have performed the commandment of the LORD. %%% Awo Samwiri n'ajja eri Sawulo: Sawulo n'amugamba nti Oweebwe Mukama omukisa: nkoze ekiragiio kya Mukama. 09S1A015.014 And Samuel said, What meaneth then this bleating of the sheep in mine ears, and the lowing of the oxen which I hear? %%% Awo Samwiri n'ayogera nti Okubejjagala kuno okw'endiga nno okuli mu matu gange makulu ki, n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira? 09S1A015.015 And Saul said, They have brought them from the Amalekites: for the people spared the best of the sheep and of the oxen, to sacrifice unto the LORD thy God; and the rest we have utterly destroyed. %%% Sawulo n'ayogera nti Baaziggye ku Bamaleki ne bazireeta: kubanga abantu baasonyiye endiga n'ente ezaasinga obulungi, okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wo; n'ebirala tubizikiririzza ddala. 09S1A015.016 Then Samuel said unto Saul, Stay, and I will tell thee what the LORD hath said to me this night. And he said unto him, Say on. %%% Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Sooka oleke nange naakubuulira Mukama by'aŋŋambye ekiro kino. N'amugamba nti Yogera. 09S1A015.017 And Samuel said, When thou wast little in thine own sight, wast thou not made the head of the tribes of Israel, and the LORD anointed thee king over Israel? %%% Samwiri n'ayogera nti Newakubadde nga wali mutono mu maaso go ggwe, tewafuuka mutwe gwa bika bya Isiraeri? Mukama n'akufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: 09S1A015.018 And the LORD sent thee on a journey, and said, Go and utterly destroy the sinners the Amalekites, and fight against them until they be consumed. %%% Mukama n'akutuma olugendo, n'ayogera nti Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, olwane nabo okutuusa lwe balimalibwawo. 09S1A015.019 Wherefore then didst thou not obey the voice of the LORD, but didst fly upon the spoil, and didst evil in the sight of the LORD? %%% Kale kiki nno ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, naye n'ogwa ku munyago, n'okola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama? 09S1A015.020 And Saul said unto Samuel, Yea, I have obeyed the voice of the LORD, and have gone the way which the LORD sent me, and have brought Agag the king of Amalek, and have utterly destroyed the Amalekites. %%% Sawulo n'agamba Samwiri nti Okugondera ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama, ne ŋŋenda olugendo Mukama lwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki. 09S1A015.021 But the people took of the spoil, sheep and oxen, the chief of the things which should have been utterly destroyed, to sacrifice unto the LORD thy God in Gilgal. %%% Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente, ebyasinga mu ebyo ebyawongebwa, okuweerayo eri Mukama Katonda wo e Girugaali. 09S1A015.022 And Samuel said, Hath the LORD as great delight in burnt offerings and sacrifices, as in obeying the voice of the LORD? Behold, to obey is better than sacrifice, and to hearken than the fat of rams. %%% Samwiri n'ayogera nti Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba okugonda kusinga ssaaddaaka obulungi n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume. 09S1A015.023 For rebellion is as the sin of witchcraft, and stubbornness is as iniquity and idolatry. Because thou hast rejected the word of the LORD, he hath also rejected thee from being king. %%% Kubanga okujeema kuliŋŋanga ekibi eky’obufumu, n’obukakanyavu buliŋŋanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka. 09S1A015.024 And Saul said unto Samuel, I have sinned: for I have transgressed the commandment of the LORD, and thy words: because I feared the people, and obeyed their voice. %%% Awo Sawulo n'agamba Samwiri nti Nayonoona: kubanga nasobya ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo: kubanga natya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe. 09S1A015.025 Now therefore, I pray thee, pardon my sin, and turn again with me, that I may worship the LORD. %%% Kale nno kaakano, nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama. 09S1A015.026 And Samuel said unto Saul, I will not return with thee: for thou hast rejected the word of the LORD, and the LORD hath rejected thee from being king over Israel. %%% Samwiri n'agamba Sawulo nti Siddeyo naawe: kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri. 09S1A015.027 And as Samuel turned about to go away, he laid hold upon the skirt of his mantle, and it rent. %%% Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, n'akwata ekirenge ky'ekyambalo kye ne kiyulika. 09S1A015.028 And Samuel said unto him, The LORD hath rent the kingdom of Israel from thee this day, and hath given it to a neighbour of thine, that is better than thou. %%% Awo Samwiri n'amugamba nti Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero, n'abuwa muliraanwa wo akusinga obulungi. 09S1A015.029 And also the Strength of Israel will not lie nor repent: for he is not a man, that he should repent. %%% Era Maanyi ga Isiraeri talirimba so talyejjusa: kubanga si muntu yejjuse. 09S1A015.030 Then he said, I have sinned: yet honour me now, I pray thee, before the elders of my people, and before Israel, and turn again with me, that I may worship the LORD thy God. %%% N'alyoka ayogera nti Nayonoona: naye nzisaamu ekitiibwa kaakano, nkwegayiridde, mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Isiraeri, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama Katonda wo. 09S1A015.031 So Samuel turned again after Saul; and Saul worshipped the LORD. %%% Awo Samwiri n'akyuka nate okugoberera Sawulo; Sawulo n'asinza Mukama. 09S1A015.032 Then said Samuel, Bring ye hither to me Agag the king of the Amalekites. And Agag came unto him delicately. And Agag said, Surely the bitterness of death is past. %%% Awo Samwiri n'alyoka ayogera nti Mundeetere wano Agagi kabaka w'Abamaleki. Agagi n'ajja gy'ali ng'akumba. Agagi n'ayogera nti Mazima obubalagaze bw'okufa buyise. 09S1A015.033 And Samuel said, As thy sword hath made women childless, so shall thy mother be childless among women. And Samuel hewed Agag in pieces before the LORD in Gilgal. %%% Samwiri n'ayogera nti Ng'ekitala kyo bwe kyafuulanga abakazi obutaba na baana, bw'atyo nnyoko bw'aliba talina baana mu bakazi. Awo Samwiri n'atemeratemera Agagi mu maaso ga Mukama e Girugaali. 09S1A015.034 Then Samuel went to Ramah; and Saul went up to his house to Gibeah of Saul. %%% Awo Samwiri n'alyoka agenda e Laama; Sawulo n'ayambuka mu nnyumba ye e Gibea ekya Sawulo. 09S1A015.035 And Samuel came no more to see Saul until the day of his death: nevertheless Samuel mourned for Saul: and the LORD repented that he had made Saul king over Israel. %%% Samwiri n'atajja nate okulaba Sawulo okutuusa ku lunaku kwe yafiira; kubanga Samwiri yanakuwalira Sawulo: Mukama ne yejjusa kubanga yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri. 09S1A016.001 And the LORD said unto Samuel, How long wilt thou mourn for Saul, seeing I have rejected him from reigning over Israel? fill thine horn with oil, and go, I will send thee to Jesse the Bethlehemite: for I have provided me a king among his sons. %%% Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, naakutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga neerabidde kabaka mu batabani be. 09S1A016.002 And Samuel said, How can I go? if Saul hear it, he will kill me. And the LORD said, Take an heifer with thee, and say, I am come to sacrifice to the LORD. %%% Samwiri n'ayogera nti Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita. Mukama n'ayogera nti Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. 09S1A016.003 And call Jesse to the sacrifice, and I will shew thee what thou shalt do: and thou shalt anoint unto me him whom I name unto thee. %%% N'oyita Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw'olikola: era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya. 09S1A016.004 And Samuel did that which the LORD spake, and came to Bethlehem. And the elders of the town trembled at his coming, and said, Comest thou peaceably? %%% Awo Samwiri n'akola ekyo Mukama kye yayogera n'ajja e Besirekemu. Abakadde b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne boogera nti Ozze mirembe? 09S1A016.005 And he said, Peaceably: I am come to sacrifice unto the LORD: sanctify yourselves, and come with me to the sacrifice. And he sanctified Jesse and his sons, and called them to the sacrifice. %%% N'ayogera nti Mirembe: nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama: mwetukuze mujje nange tugende ku ssaddaaka. N'atukuza Yese ne batabani be n'abayita okujja ku ssaddaaka. 09S1A016.006 And it came to pass, when they were come, that he looked on Eliab, and said, Surely the LORD's anointed is before him. %%% Awo olwatuuka nga batuuse n'atunuulira Eriyaabu n'ayogera nti Mazima Mukama gw'afukako amafuta ali mu maaso ge. 09S1A016.007 But the LORD said unto Samuel, Look not on his countenance, or on the height of his stature; because I have refused him: for the LORD seeth not as man seeth; for man looketh on the outward appearance, but the LORD looketh on the heart. %%% Naye Mukama n'agamba Samwiri nti Totunuulira maaso ge newakubadde embala Ye bw'eri empanvu; kubanga mugaanyi: kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima. 09S1A016.008 Then Jesse called Abinadab, and made him pass before Samuel. And he said, Neither hath the LORD chosen this. %%% Awo Yese n’alyoka ayita Abinadaabu n'amuyisa mu maaso ga Samwiri. N'ayogera nti So n'oyo Mukama tamulonze. 09S1A016.009 Then Jesse made Shammah to pass by. And he said, Neither hath the LORD chosen this. %%% Awo Yese n'ayisaawo Samma. N'ayogera nti So n'oyo Mukama tamulonze. 09S1A016.010 Again, Jesse made seven of his sons to pass before Samuel. And Samuel said unto Jesse, The LORD hath not chosen these. %%% Yese n'ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be. Samwiri n'agamba Yese nti Mukama talonze abo. 09S1A016.011 And Samuel said unto Jesse, Are here all thy children? And he said, There remaineth yet the youngest, and, behold, he keepeth the sheep. And Samuel said unto Jesse, Send and fetch him: for we will not sit down till he come hither. %%% Samwiri n'agamba Yese nti Abaana bo bonna bali wano? N'ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, alunda endiga. Samwiri n'agamba Yese nti Tuma bamukime: kubanga tetuutuule okutuusa lw'anajja eno. 09S1A016.012 And he sent, and brought him in. Now he was ruddy, and withal of a beautiful countenance, and goodly to look to. And the LORD said, Arise, anoint him: for this is he. %%% N'atuma n'amuyingiza. Era yali mumyufu n'amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Mukama n'ayogera nti Golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo. 09S1A016.013 Then Samuel took the horn of oil, and anointed him in the midst of his brethren: and the Spirit of the LORD came upon David from that day forward. So Samuel rose up, and went to Ramah. %%% Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'agolokoka n'agenda e Laama. 09S1A016.014 But the Spirit of the LORD departed from Saul, and an evil spirit from the LORD troubled him. %%% Awo omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo, n'omuzimu omubi ogwava eri Mukama ne gumunakuwaza. 09S1A016.015 And Saul's servants said unto him, Behold now, an evil spirit from God troubleth thee. %%% Awo abaddu ba Sawulo ne bamugamba nti Laba nno; omuzimu omubi oguva eri Katonda gukunakuwaza. 09S1A016.016 Let our lord now command thy servants, which are before thee, to seek out a man, who is a cunning player on an harp: and it shall come to pass, when the evil spirit from God is upon thee, that he shall play with his hand, and thou shalt be well. %%% Mukama waffe alagire kaakano abaddu bo, abali mu maaso go, okunoonya omusajja omukubi w'ennanga ow’amagezi: awo olunaatunkanga omuzimu omubi oguva eri Katonda bwe gunaabanga ku ggwe, kale anaakubanga ennanga n'engalo ze naawe oliwona. 09S1A016.017 And Saul said unto his servants, Provide me now a man that can play well, and bring him to me. %%% Sawulo n'agamba abaddu be nti Mundabire nno omusajja ayinza okukuba obulungi mumundeetere. 09S1A016.018 Then answered one of the servants, and said, Behold, I have seen a son of Jesse the Bethlehemite, that is cunning in playing, and a mighty valiant man, and a man of war, and prudent in matters, and a comely person, and the LORD is with him. %%% Awo omu ku balenzi n'addamu n'ayogera nti Laba, nalaba mutabani wa Yese Omubesirekemu, omukubi w'ennanga ow'amagezi, era omusajja ow'amaanyi omuzira, era omulwanyi, era omutegeevu okwogera, era omuntu omulungi, ne Mukama ali naye. 09S1A016.019 Wherefore Saul sent messengers unto Jesse, and said, Send me David thy son, which is with the sheep. %%% Sawulo kyeyava atumira Yese ababaka n'ayogera nti Mpeereza Dawudi mutabani wo ali n'endiga. 09S1A016.020 And Jesse took an ass laden with bread, and a bottle of wine, and a kid, and sent them by David his son unto Saul. %%% Yese n'addira endogoyi n'agitikka emigaati n'ekita eky'omwenge n'omwana gw'embuzi, n'abiweereza Sawulo mu mukono gwa Dawudi mutabani we. 09S1A016.021 And David came to Saul, and stood before him: and he loved him greatly; and he became his armourbearer. %%% Awo Dawudi n’ajja eri Sawulo n'ayimirira mu maaso ge: n'amwagala nnyo; n'atwalanga ebyokulwanyisa bye: 09S1A016.022 And Saul sent to Jesse, saying, Let David, I pray thee, stand before me; for he hath found favour in my sight. %%% Sawulo n'atumira Yese ng'ayogera nti Nkwegayiridde Dawudi ayimirirenga mu maaso gange; kubanga aganze mu maaso gange. 09S1A016.023 And it came to pass, when the evil spirit from God was upon Saul, that David took an harp, and played with his hand: so Saul was refreshed, and was well, and the evil spirit departed from him. %%% Awo olwatuukanga omuzimu omubi ogwava eri Katonda bwe gwabanga ku Sawulo, Dawudi n'addiranga ennanga ye n'akuba n’engalo ze: awo Sawulo n'aweeranga n'awona, omuzimu omubi ne gumuvaako. 09S1A017.001 Now the Philistines gathered together their armies to battle, and were gathered together at Shochoh, which belongeth to Judah, and pitched between Shochoh and Azekah, in Ephesdammim. %%% Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati w'e Soko ne Azeka mu Efusudammimu. 09S1A017.002 And Saul and the men of Israel were gathered together, and pitched by the valley of Elah, and set the battle in array against the Philistines. %%% Sawulo n'abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n'Abafirisuuti. 09S1A017.003 And the Philistines stood on a mountain on the one side, and Israel stood on a mountain on the other side: and there was a valley between them. %%% Abafirisuuti ne bayimirira ku lusozi eruuyi ne Isiraeri n'ayimirira ku lusozi eruuyi: ne waba ekiwonvu wakati waabwe. 09S1A017.004 And there went out a champion out of the camp of the Philistines, named Goliath, of Gath, whose height was six cubits and a span. %%% Ne mu lusiisira olw'Abafrisuuti ne muva omuzira, erinnya lye Goliyaasi, ow'e Gaasi, obuwanvu bwe emikono mukaaga ko oluta; 09S1A017.005 And he had an helmet of brass upon his head, and he was armed with a coat of mail; and the weight of the coat was five thousand shekels of brass. %%% Era yali atikkide seppewo ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'ayambala ekizibawo eky'ekikomo; n'obuzito bw'ekizibawo bwali sekeri enkumi ttaano ez'ekikomo. 09S1A017.006 And he had greaves of brass upon his legs, and a target of brass between his shoulders. %%% Era yali ayambadde ku magulu eby'ebikomo, era yalina n'effumu ery'ekikomo ku kibegabega kye. 09S1A017.007 And the staff of his spear was like a weaver's beam; and his spear's head weighed six hundred shekels of iron: and one bearing a shield went before him. %%% N'olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋanga omuti ogulukirwako engoye; n'effumu lye lyennyini obuzito bwalyo sekeri kikumi ez'ekyuma: n'oyo eyatwalanga engabo ye n'amukulemberanga. 09S1A017.008 And he stood and cried unto the armies of Israel, and said unto them, Why are ye come out to set your battle in array? am not I a Philistine, and ye servants to Saul? choose you a man for you, and let him come down to me. %%% Awo n'ayimirira n'alangira eggye lya Isiraeri n'abagamba nti Mwafulumira ki okusimba ennyiriri zammwe? nze siri Mufirisuuti nammwe baddu ba Sawulo? mwerondere omusajja aserengete gye ndi. 09S1A017.009 If he be able to fight with me, and to kill me, then will we be your servants: but if I prevail against him, and kill him, then shall ye be our servants, and serve us. %%% Bw'anaayinza okulwana nange n'anzita, kale tunaaba baddu bammwe: naye bwe nnaamusinga ne mmutta, kale mmwe munaaba baddu baffe ne mutuweereza. 09S1A017.010 And the Philistine said, I defy the armies of Israel this day; give me a man, that we may fight together. %%% Omufirisuuti n'ayogera nti Nsoomozezza eggye lya Isiraeri leero: mumpe omusajja tulwane fembi. 09S1A017.011 When Saul and all Israel heard those words of the Philistine, they were dismayed, and greatly afraid. %%% Awo Sawulo ne Isiraeri yenna bwe baawulira ebigambo ebyo eby'Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo. 09S1A017.012 Now David was the son of that Ephrathite of Bethlehemjudah, whose name was Jesse; and he had eight sons: and the man went among men for an old man in the days of Saul. %%% Awo Dawudi yali mwana wa Mwefulaasi oyo ow'e Besirekemuyuda, erinnya lye Yese; era yalina batabani be munaana: era omusajja yali mukadde ku mirembe gya Sawulo ng'akootakoota mu bantu. 09S1A017.013 And the three eldest sons of Jesse went and followed Saul to the battle: and the names of his three sons that went to the battle were Eliab the firstborn, and next unto him Abinadab, and the third Shammah. %%% Ne batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagoberedde Sawulo mu ntalo: ne batabani be abasatu abaagenda mu ntalo amannya gaabwe Eriyaabu omubereberye, n'eyamuddako Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma. 09S1A017.014 And David was the youngest: and the three eldest followed Saul. %%% Ne Dawudi ye yali omuto: n'abakulu abasatu ne bagoberera Sawulo. 09S1A017.015 But David went and returned from Saul to feed his father's sheep at Bethlehem. %%% Era Dawudi n'addiŋŋananga okuva eri Sawulo okulunda endiga za kitaawe e Besirekemu. 09S1A017.016 And the Philistine drew near morning and evening, and presented himself forty days. %%% Omufirisuuti n'asemberanga enkya n'akawungeezi, ne yeeyolekeranga ennaku amakumi ana. 09S1A017.017 And Jesse said unto David his son, Take now for thy brethren an ephah of this parched corn, and these ten loaves, and run to the camp to thy brethren. %%% Awo Yese n'agamba Dawudi mutabani we nti Twalira nno baganda bo efa ey'eŋŋaano eno ensiike n'emigaati gino ekkumi, oyanguwe obitwale mu lusiisira eri baganda bo; 09S1A017.018 And carry these ten cheeses unto the captain of their thousand, and look how thy brethren fare, and take their pledge. %%% otwalire omukulu w'olukumi lwabwe ebitole bino ekkumi eby'amata amakalu, olabe baganda bo bwe bali, obaggyeko omusingo gwabwe. 09S1A017.019 Now Saul, and they, and all the men of Israel, were in the valley of Elah, fighting with the Philistines. %%% Era Sawulo nabo abasajja bonna aba Isiraeri baali mu kiwonvu Era nga balwana n'Abafirisuuti. 09S1A017.020 And David rose up early in the morning, and left the sheep with a keeper, and took, and went, as Jesse had commanded him; and he came to the trench, as the host was going forth to the fight, and shouted for the battle. %%% Dawudi n'agolokoka enkya mu makya, n'alekera endiga omusumba n'addira ebintu n'agenda nga Yese bwe yamulagira; n'atuuka mu kifo eky'amagaali, eggye eryali lifuluma okulwana nga balanga emiruka egy'obulwa. 09S1A017.021 For Israel and the Philistines had put the battle in array, army against army. %%% Awo Isiraeri n'Abafirisuuti ne basimba ennyiriri, eggye nga lyolekera eggye. 09S1A017.022 And David left his carriage in the hand of the keeper of the carriage, and ran into the army, and came and saluted his brethren. %%% Dawudi n'aleka omugugu gwe mu mukono gw'omukuumi w'emigugu, n'adduka mbiro eri eggye n'ajja n'alamusa baganda be. 09S1A017.023 And as he talked with them, behold, there came up the champion, the Philistine of Gath, Goliath by name, out of the armies of the Philistines, and spake according to the same words: and David heard them. %%% Awo bwe yali anyumya nabo, laba, ne wayambuka oyo omuzira, Omufirisuuti ow'e Gaasi, erinnya lye Goliyaasi, ng'ava mu nnyiriri ez'Abafirisuuti n'ayogera ng'ebigambo ebyo bwe byali: Dawudi n'abiwulira. 09S1A017.024 And all the men of Israel, when they saw the man, fled from him, and were sore afraid. %%% Awo abasajja bonna aba Isiraeri bwe baalaba omusajja ne bamudduka ne batya nnyo. 09S1A017.025 And the men of Israel said, Have ye seen this man that is come up? surely to defy Israel is he come up: and it shall be, that the man who killeth him, the king will enrich him with great riches, and will give him his daughter, and make his father's house free in Israel. %%% Abasajja ba Isiraeri ne boogera nti Mulabye omusajja oyo ayambuse? mazima okusoomoza Isiraeri kyavudde ayambuka: awo olunaatuuka omuntu anaamutta kabaka anaamugaggawaza n'obugagga bungi, era anaamuwa ne muwala we, era anaafuula ennyumba ya kitaawe okuba ey'eddembe mu Isiraeri. 09S1A017.026 And David spake to the men that stood by him, saying, What shall be done to the man that killeth this Philistine, and taketh away the reproach from Israel? for who is this uncircumcised Philistine, that he should defy the armies of the living God? %%% Awo Dawudi n'ayogera n'abasajja abaali bayimiridde okumuliraana nti Omuntu anaakolwa atya anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri? kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani asoomoze eggye lya Katonda omulamu? 09S1A017.027 And the people answered him after this manner, saying, So shall it be done to the man that killeth him. %%% Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti Bw'atyo bw'anaakolwa omuntu anaamutta. 09S1A017.028 And Eliab his eldest brother heard when he spake unto the men; and Eliab's anger was kindled against David, and he said, Why camest thou down hither? and with whom hast thou left those few sheep in the wilderness? I know thy pride, and the naughtiness of thine heart; for thou art come down that thou mightest see the battle. %%% Ne Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira bwe yayogera n'abasajja; obusungu ne bumukwata Eriyaabu eri Dawudi, n'ayogera nti Oserengetedde ki? n'endiga ezo entono wazirekera ani ku ttale? Mmanyi amalala go n'ekyejo ekiri mu mutima gwo, kubanga oserengese okulaba olutalo. 09S1A017.029 And David said, What have I now done? Is there not a cause? %%% Dawudi n'ayogera nti Nkoze ki kaakano? Tewali nsonga? 09S1A017.030 And he turned from him toward another, and spake after the same manner: and the people answered him again after the former manner. %%% N'amuvaako n'akyukira omulala n'ayogera ebigambo ebimu n'ebyo: abantu ne bamuddamu nate bwe batyo nga bwe baamuzzeemu olubereberye. 09S1A017.031 And when the words were heard which David spake, they rehearsed them before Saul: and he sent for him. %%% Awo ebigambo bwe byawulirwa Dawudi bye yayogera ne babyogerera mu maaso ga Sawulo; n'amutumya. 09S1A017.032 And David said to Saul, Let no man's heart fail because of him; thy servant will go and fight with this Philistine. %%% Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuntu yenna aleme akuggwaamu omwoyo ku lulwe; omuddu wo anaagenda n'alwana n'Omufirisuuti oyo. 09S1A017.033 And Saul said to David, Thou art not able to go against this Philistine to fight with him: for thou art but a youth, and he a man of war from his youth. %%% Sawulo n'agamba Dawudi nti Toyinza kusisinkana na Mufirisuuti oyo okulwana naye: kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe; 09S1A017.034 And David said unto Saul, Thy servant kept his father's sheep, and there came a lion, and a bear, and took a lamb out of the flock: %%% Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuddu wo yakuumanga endiga za kitaawe; awo bwe wajjanga empologoma oba ddubu n'eggya omwana gw'endiga mu kisibo, 09S1A017.035 And I went out after him, and smote him, and delivered it out of his mouth: and when he arose against me, I caught him by his beard, and smote him, and slew him. %%% ne nfulumanga ne ngigoberera ne ngikuba ne ngiwonya nga ngiggya mu kamwa kaayo: awo bwe yangolokokerangako ne ngikwata ku kirevu kyayo ne ngikuba ne ngitta. 09S1A017.036 Thy servant slew both the lion and the bear: and this uncircumcised Philistine shall be as one of them, seeing he hath defied the armies of the living God. %%% Omuddu wo yakuba empologoma era n'eddubu: n'Omufirisuuti oyo atali mukomole aliba ng'emu ku zo kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu. 09S1A017.037 David said moreover, The LORD that delivered me out of the paw of the lion, and out of the paw of the bear, he will deliver me out of the hand of this Philistine. And Saul said unto David, Go, and the LORD be with thee. %%% Dawudi n'ayogera nti Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alunponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo. Sawulo n'agamba Dawudi nti Genda, era Mukama anaaba naawe. 09S1A017.038 And Saul armed David with his armour, and he put an helmet of brass upon his head; also he armed him with a coat of mail. %%% Awo Sawulo n'ayambaza Dawudi ebyambalo bye, n'amutikkira enkuufiira ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'amwambaza ekizibawo eky'ekikomo. 09S1A017.039 And David girded his sword upon his armour, and he assayed to go; for he had not proved it. And David said unto Saul, I cannot go with these; for I have not proved them. And David put them off him. %%% Awo Dawudi ne yeesiba ekitala kye ku byambalo bye, n'agezaako okutambula; kubanga yali tannaba kubyegezaamu. Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti Siyinza kugenda na bino; kubanga sinnabyegezaamu. Dawudi n'abyeyambulamu. 09S1A017.040 And he took his staff in his hand, and chose him five smooth stones out of the brook, and put them in a shepherd's bag which he had, even in a scrip; and his sling was in his hand: and he drew near to the Philistine. %%% N'addira omuggo gwe mu mukono gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n'agateeka mu nsawo ey'omusumba gye yalina, mu ndyanga ye; n'envuumuulo ye yali mu mukono gwe: n'asemberera Omufirisuuti. 09S1A017.041 And the Philistine came on and drew near unto David; and the man that bare the shield went before him. %%% Awo Omufirisuuti n'ajja n'amusemberera Dawudi; n'omusajja eyatwalanga engabo n'amukulembera. 09S1A017.042 And when the Philistine looked about, and saw David, he disdained him: for he was but a youth, and ruddy, and of a fair countenance. %%% Awo Omufirisuuti bwe yamagamaga n'alaba Dawudi, n'amunyooma: kubanga nga yali mulenzirenzi, era mumyufu, n'amaaso ge nga malungi. 09S1A017.043 And the Philistine said unto David, Am I a dog, that thou comest to me with staves? And the Philistine cursed David by his gods. %%% Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti Nze ndi mbwa n'okujja n'ojja gye ndi n'emiggo? Omufirisuuti n'akolimira Dawudi eri bakatonda be. 09S1A017.044 And the Philistine said to David, Come to me, and I will give thy flesh unto the fowls of the air, and to the beasts of the field. %%% Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti Jjangu gye ndi ngabire omubiri gwo ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko. 09S1A017.045 Then said David to the Philistine, Thou comest to me with a sword, and with a spear, and with a shield: but I come to thee in the name of the LORD of hosts, the God of the armies of Israel, whom thou hast defied. %%% Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effuniu: naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza: 09S1A017.046 This day will the LORD deliver thee into mine hand; and I will smite thee, and take thine head from thee; and I will give the carcases of the host of the Philistines this day unto the fowls of the air, and to the wild beasts of the earth; that all the earth may know that there is a God in Israel. %%% Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkuggyako omutwe gwo; era naagabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri: 09S1A017.047 And all this assembly shall know that the LORD saveth not with sword and spear: for the battle is the LORD's, and he will give you into our hands. %%% era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe. 09S1A017.048 And it came to pass, when the Philistine arose, and came, and drew nigh to meet David, that David hastened, and ran toward the army to meet the Philistine. %%% Awo olwatuuka Omufirisuuti bwe yagolokoka n'asembera okusisinkana ne Dawudi, awo Dawudi n'ayanguwa n'adduka mbiro eri eggye okusisinkana n'Omufirisuuti. 09S1A017.049 And David put his hand in his bag, and took thence a stone, and slang it, and smote the Philistine in his forehead, that the stone sunk into his forehead; and he fell upon his face to the earth. %%% Awo Dawudi n'ayingiza engalo ze mu nsawo ye n'aggyamu ejjinja n'alivuumuula n'akuba Omufirisuuti ekyenyi; ejjinja ne liiyingira mu kyenyi kye, n'agwa nga yevuunise. 09S1A017.050 So David prevailed over the Philistine with a sling and with a stone, and smote the Philistine, and slew him; but there was no sword in the hand of David. %%% Awo Dawudi n'awangula bw'atyo Omufirisuuti n'envuumuulo n'ejjinja, n'akuba Omufirisuuti n'amutta; naye nga temuli kitala mu mukono gwa Dawudi. 09S1A017.051 Therefore David ran, and stood upon the Philistine, and took his sword, and drew it out of the sheath thereof, and slew him, and cut off his head therewith. And when the Philistines saw their champion was dead, they fled. %%% Awo Dawudi n'adduka mbiro n'ayimirira ku Mufirisuuti, n'addira ekitala kye n'akisowola mu kiraato kyakyo, n'amutta n'amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde ne badduka. 09S1A017.052 And the men of Israel and of Judah arose, and shouted, and pursued the Philistines, until thou come to the valley, and to the gates of Ekron. And the wounded of the Philistines fell down by the way to Shaaraim, even unto Gath, and unto Ekron. %%% Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne boogerera waggulu ne bagoberera Abafirisuuti okutuusa lw'otuuka e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni. N'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni. 09S1A017.053 And the children of Israel returned from chasing after the Philistines, and they spoiled their tents. %%% Abaana ba Isiraeri ne baleka okugoberera Abafirisuuti ne bakomawo ne banyaga olusiisira lwabwe. 09S1A017.054 And David took the head of the Philistine, and brought it to Jerusalem; but he put his armour in his tent. %%% Awo Dawudi n'addira omutwe gw'Omufirisuuti n'agutwala e Yerusaalemi; naye n'ateeka ebyokulwanyisa bye mu weema ye. 09S1A017.055 And when Saul saw David go forth against the Philistine, he said unto Abner, the captain of the host, Abner, whose son is this youth? And Abner said, As thy soul liveth, O king, I cannot tell. %%% Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'agamba Abuneeri, omukulu w'eggye, nti Abuneeri, omulenzi ono ye mwana w'ani? Abuneeri n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, ai kabaka, simanyi. 09S1A017.056 And the king said, Enquire thou whose son the stripling is. %%% Kabaka n'ayogera nti Buuza kitaawe w'omuvubuka oyo bw'ali. 09S1A017.057 And as David returned from the slaughter of the Philistine, Abner took him, and brought him before Saul with the head of the Philistine in his hand. %%% Awo Dawudi bwe yali akomawo ng'asse Omufirisuuti, Abuneeri n'amutwala n'amuleeta eri Sawulo ng'alina omutwe gw'Omufirisuuti mu mukono gwe. 09S1A017.058 And Saul said to him, Whose son art thou, thou young man? And David answered, I am the son of thy servant Jesse the Bethlehemite. %%% Sawulo n'amugamba nti Ggwe oli mwana w'ani, mulenzi ggwe? Dawudi n'addamu nti Nze ndi mwana wa muddu wo Yese Omubesirekemu. 09S1A018.001 And it came to pass, when he had made an end of speaking unto Saul, that the soul of Jonathan was knit with the soul of David, and Jonathan loved him as his own soul. %%% Awo olwatuuka bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala ng'emmeeme ye ye. 09S1A018.002 And Saul took him that day, and would let him go no more home to his father's house. %%% Sawulo n'amutwala ku lunaku olwo n'atamuganya kuddayo nate eka mu nnyumba ya kitaawe. 09S1A018.003 Then Jonathan and David made a covenant, because he loved him as his own soul. %%% Awo Yonasaani ne Dawudi ne balagaana endagaano kubanga yamwagala ng'emmeeme ye ye. 09S1A018.004 And Jonathan stripped himself of the robe that was upon him, and gave it to David, and his garments, even to his sword, and to his bow, and to his girdle. %%% Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe. 09S1A018.005 And David went out whithersoever Saul sent him, and behaved himself wisely: and Saul set him over the men of war, and he was accepted in the sight of all the people, and also in the sight of Saul's servants. %%% Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayisa n'amagezi: Sawulo n'amufuula omukulu w'abasajja abalwanyi, abantu bonna ne bakisiima, era n'abaddu ba Sawulo. 09S1A018.006 And it came to pass as they came, when David was returned from the slaughter of the Philistine, that the women came out of all cities of Israel, singing and dancing, to meet king Saul, with tabrets, with joy, and with instruments of musick. %%% Awo olwatuuka nga bajja, Dawudi bwe yakomawo ng'asse Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isiraeri, nga bayimba era nga bazina, okusisinkana ne kabaka Sawulo, nga balina ebitaasa, nga basanyuka, nga bakutte ebivuga. 09S1A018.007 And the women answered one another as they played, and said, Saul hath slain his thousands, and David his ten thousands. %%% Abakazi ne bayimbiragana nga bazannya ne boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe. 09S1A018.008 And Saul was very wroth, and the saying displeased him; and he said, They have ascribed unto David ten thousands, and to me they have ascribed but thousands: and what can he have more but the kingdom? %%% Sawulo n'asunguwala nnyo ekigambo ekyo ne kimunyiiza; n'ayogera nti Dawudi bamuwadde obukumi, nange bampadde enkumi zokka: kale ayinza okweyongera okuba na ki wabula obwakabaka? 09S1A018.009 And Saul eyed David from that day and forward. %%% Awo Sawulo n'amutunuulira Dawudi n'eriiso ebbi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. 09S1A018.010 And it came to pass on the morrow, that the evil spirit from God came upon Saul, and he prophesied in the midst of the house: and David played with his hand, as at other times: and there was a javelin in Saul's hand. %%% Awo olwatuuka enkya omuzimu omubi ogwava eri Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, n'alagulira wakati mu nnyumba: Dawudi n'akuba ennanga n'engalo ze nga bwe yakolanga buli lunaku: era Sawulo yalina effumu lye mu ngalo ze. 09S1A018.011 And Saul cast the javelin; for he said, I will smite David even to the wall with it. And David avoided out of his presence twice. %%% Sawulo n'akasuka effumu; kubanga n'ayogera nti Naafumita Dawudi okukwasa n’ekisenge. Dawudi ne yeewomera mu maaso ge emirundi ebiri. 09S1A018.012 And Saul was afraid of David, because the LORD was with him, and was departed from Saul. %%% Awo Sawulo n'atya Dawudi kubanga Mukama yali naye, era ng'avudde ku Sawulo. 09S1A018.013 Therefore Saul removed him from him, and made him his captain over a thousand; and he went out and came in before the people. %%% Sawulo kyeyava amuggya w'ali n'amufuula omukulu we ow'olukumi: n'afulumanga n'ayingira mu maaso g'abantu. 09S1A018.014 And David behaved himself wisely in all his ways; and the LORD was with him. %%% Dawudi n'ayisa n'amagezi mu makubo ge gonna; era Mukama yali naye. 09S1A018.015 Wherefore when Saul saw that he behaved himself very wisely, he was afraid of him. %%% Awo Sawulo bwe yalaba ng'ayisa n'amagezi mangi nnyo, n'amutekemukira. 09S1A018.016 But all Israel and Judah loved David, because he went out and came in before them. %%% Naye Isiraeri yenna ne Yuda ne bamwagala Dawudi; kubanga yafulumanga n'ayingira mu maaso gaabwe. 09S1A018.017 And Saul said to David, Behold my elder daughter Merab, her will I give thee to wife: only be thou valiant for me, and fight the LORD's battles. For Saul said, Let not mine hand be upon him, but let the hand of the Philistines be upon him. %%% Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Laba, muwala wange omukulu Merabu ndikumuwa okumuwasa: kyokka ombeereranga omuzira olwanenga entalo za Mukama. Kubanga Sawulo yayogera nti Omukono gwange guleme okumubaako, naye omukono gw'Abafirisuuti gumubeeko. 09S1A018.018 And David said unto Saul, Who am I? and what is my life, or my father's family in Israel, that I should be son in law to the king? %%% Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti Nze ani, n'obulamu bwange kiki, oba ennyumba ya kitange mu Isiraeri, nze okuba mukoddomi wa kabaka? 09S1A018.019 But it came to pass at the time when Merab Saul's daughter should have been given to David, that she was given unto Adriel the Meholathite to wife. %%% Naye olwatuuka ebiro bwe byajja bwe kyagwanira okumuwa Dawudi Merabu muwala wa Sawulo, awo ne bamuwa Adulieri Omumekolasi okumufumbirwa. 09S1A018.020 And Michal Saul's daughter loved David: and they told Saul, and the thing pleased him. %%% Awo Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi: ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima. 09S1A018.021 And Saul said, I will give him her, that she may be a snare to him, and that the hand of the Philistines may be against him. Wherefore Saul said to David, Thou shalt this day be my son in law in the one of the twain. %%% Sawulo n'ayogera nti Ndimumuwa abeere ekyambika gy'ali, n'omukono gw'Abafirisuuti gulwane naye. Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti Leero onooba mukoddomi wange omulundi ogw'okubiri. 09S1A018.022 And Saul commanded his servants, saying, Commune with David secretly, and say, Behold, the king hath delight in thee, and all his servants love thee: now therefore be the king's son in law. %%% Awo Sawulo n'alagira abaddu be nti Muteese ne Dawudi mu kyama mwogere nti Laba, kabaka akusanyukira n'abaddu be bonna bakwagala: kale nno kaakano beera mukoddomi wa kabaka. 09S1A018.023 And Saul's servants spake those words in the ears of David. And David said, Seemeth it to you a light thing to be a king's son in law, seeing that I am a poor man, and lightly esteemed? %%% Awo abaddu ba Sawulo ne boogera ebigambo ebyo mu matu ga Dawudi. Dawudi n'ayogera nti Mukiyita kigambo kitono okuba mukoddomi wa kabaka, nze ani omusajja omwavu era gwe batayitamu ka buntu? 09S1A018.024 And the servants of Saul told him, saying, On this manner spake David. %%% Abaddu ba Sawulo ne bamubuulira nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bw'ayogedde. 09S1A018.025 And Saul said, Thus shall ye say to David, The king desireth not any dowry, but an hundred foreskins of the Philistines, to be avenged of the king's enemies. But Saul thought to make David fall by the hand of the Philistines. %%% Sawulo n'ayogera nti Bwe mutyo bwe munaagamba Dawudi nti Kabaka tayagala bya buko byonna, wabula ebikuta by'Abafirisuuti kikumi, okuwalana eggwanga ku balabe ba kabaka. Era Sawulo yali alowooza okussa Dawudi omukono gw'Abafirisuuti. 09S1A018.026 And when his servants told David these words, it pleased David well to be the king's son in law: and the days were not expired. %%% Awo abaddu be bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ennaku nga tezinnaba kuyitawo; 09S1A018.027 Wherefore David arose and went, he and his men, and slew of the Philistines two hundred men; and David brought their foreskins, and they gave them in full tale to the king, that he might be the king's son in law. And Saul gave him Michal his daughter to wife. %%% Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja be, n'atta ku Bafirisuuti abasajja ebikumi bibiri; Dawudi n'aleeta ebikuta byabwe, n’abiwa kabaka omuwendo nga gutuukiiidde, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n'amuwa Mikali muwala we okumufumbirwa. 09S1A018.028 And Saul saw and knew that the LORD was with David, and that Michal Saul's daughter loved him. %%% Sawulo n'alaba n'ategeera nga Mukama ali ne Dawudi; ne Mikali muwala wa Sawulo n'amwagala. 09S1A018.029 And Saul was yet the more afraid of David; and Saul became David's enemy continually. %%% Awo Sawulo ne yeeyongera nate okutya Dawudi, Sawulo n'aba mulabe wa Dawudi ennaku zonna. 09S1A018.030 Then the princes of the Philistines went forth: and it came to pass, after they went forth, that David behaved himself more wisely than all the servants of Saul; so that his name was much set by. %%% Awo abaami b'Abafirisuuti ne balyoka batabaala: awo olwatuuka buli lwe baatabaalanga, Dawudi n'ayisanga n'amagezi n'asinga abaddu ba Sawulo bonna; erinnya lye ne lyatiikirira nnyo. 09S1A019.001 And Saul spake to Jonathan his son, and to all his servants, that they should kill David. %%% Awo Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we n'abaddu be bonna batte Dawudi. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo yamusanyukira yo Dawudi. 09S1A019.002 But Jonathan Saul's son delighted much in David: and Jonathan told David, saying, Saul my father seeketh to kill thee: now therefore, I pray thee, take heed to thyself until the morning, and abide in a secret place, and hide thyself: %%% Yonasaani n'abuulira Dawudi ng'ayogera nti Sawulo kitange ayagala okukutta: kale nno kaakano, nkwegayiridde, weekuume enkya obeere mu kifo eky'ekyama weekise: 09S1A019.003 And I will go out and stand beside my father in the field where thou art, and I will commune with my father of thee; and what I see, that I will tell thee. %%% nange naafuluma ne nnyimirira ku mabbali ga kitange mu nnimiro mw'oli, era naateesa ne kitange ebigambo byo; era bwe ndiraba ekigambo kyonna, ndikubuulira. 09S1A019.004 And Jonathan spake good of David unto Saul his father, and said unto him, Let not the king sin against his servant, against David; because he hath not sinned against thee, and because his works have been to thee-ward very good: %%% Awo Yonasaani n'ayogera ne Sawulo kitaawe ng'atenda Dawudi obulungi n’amugamba nti Kabaka tayonoonanga muddu we Dawudi; kubanga takwonoonanga ggwe, era kubanga ebikolwa bye byabanga birungi nnyo gy'oli; 09S1A019.005 For he did put his life in his hand, and slew the Philistine, and the LORD wrought a great salvation for all Israel: thou sawest it, and didst rejoice: wherefore then wilt thou sin against innocent blood, to slay David without a cause? %%% kubanga yateeka obulamu bwe mu mukono gwe n'akuba Omufirisuuti, Mukama n’akolera Isiraeri yenna obulokozi obukulu: wabulaba n'osanyuka: kale kiki ekikwagaza okwonoona omusaayi ogutaliiko musango, okutta Dawudi awatali nsonga? 09S1A019.006 And Saul hearkened unto the voice of Jonathan: and Saul sware, As the LORD liveth, he shall not be slain. %%% Sawulo n'awulira eddoboozi lya Yonasaani: Sawulo n'alayira nti Mukama nga bwali omulamu, talittibwa. 09S1A019.007 And Jonathan called David, and Jonathan shewed him all those things. And Jonathan brought David to Saul, and he was in his presence, as in times past. %%% Yonasaani n'ayita Dawudi, Yonasaani n'amutegeeza ebigambo ebyo byonna. Yonasaani n'aleeta Dawudi eri Sawulo, n'abanga mu maaso ge ng'olubereberye. 09S1A019.008 And there was war again: and David went out, and fought with the Philistines, and slew them with a great slaughter; and they fled from him. %%% Ne waba entalo nate: Dawudi n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti, n'abatta olutta olunene; ne badduka mu maaso ge. 09S1A019.009 And the evil spirit from the LORD was upon Saul, as he sat in his house with his javelin in his hand: and David played with his hand. %%% Awo omuzimu omubi ogwava eri Mukama gwali ku Sawulo, ng'atudde mu nnyumba ye ng'akute ffumu lye mu ngalo ze; ne Dawudi ng'akuba ennanga n'engalo ze: 09S1A019.010 And Saul sought to smite David even to the wall with the javelin, but he slipped away out of Saul's presence, and he smote the javelin into the wall: and David fled, and escaped that night. %%% Awo Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi n'okumukwasa n'ekisenge n'effumu; naye ne yeemulula mu maaso ga Sawulo, n'akuba effumu mu kisenge: Dawudi n'adduka n'awona ekiro ekyo. 09S1A019.011 Saul also sent messengers unto David's house, to watch him, and to slay him in the morning: and Michal David's wife told him, saying, If thou save not thy life to night, to morrow thou shalt be slain. %%% Awo Sawulo n'atuma ababaka mu nnyumba ya Dawudi, okumukuuma, bamutte enkya: Mikali mukazi wa Dawudi n'amubuulira ng'ayogera nti Bw'otoowonye bulamu bwo ekiro kino, onottibwa enkya. 09S1A019.012 So Michal let David down through a window: and he went, and fled, and escaped. %%% Awo Mikali n'assiza Dawudi mu ddirisa: n'agenda n'adduka n'awona. 09S1A019.013 And Michal took an image, and laid it in the bed, and put a pillow of goats' hair for his bolster, and covered it with a cloth. %%% Mikali n'addira terafi n'amuteeka mu kitanda, n'ateeka ekigugu eky'ebyoya by'embuzi emutwetwe, n'akibikkako embugo. 09S1A019.014 And when Saul sent messengers to take David, she said, He is sick. %%% Awo Sawulo bwe yatuma ababaka okukwata Dawudi, n'ayogera nti Alwadde. 09S1A019.015 And Saul sent the messengers again to see David, saying, Bring him up to me in the bed, that I may slay him. %%% Sawulo n'atuma ababaka okulaba Dawudi ng'ayogera nti Mumundeetere mu kitanda ndyoke mmutte. 09S1A019.016 And when the messengers were come in, behold, there was an image in the bed, with a pillow of goats' hair for his bolster. %%% Awo ababaka bwe baayingira, laba, terafi ng'ali mu kitanda, ekigugu eky'ebyoya by'embuzi nga kiri emutwetwe. 09S1A019.017 And Saul said unto Michal, Why hast thou deceived me so, and sent away mine enemy, that he is escaped? And Michal answered Saul, He said unto me, Let me go; why should I kill thee? %%% Sawulo n'agamba Mikali nti Onnimbidde ki bw'otyo, n'ota omulabe wange agende n'okuwona awonye? Mikali n'addamu Sawulo nti Yaŋŋambye nti Ka ŋŋende; nandikuttidde ki? 09S1A019.018 So David fled, and escaped, and came to Samuel to Ramah, and told him all that Saul had done to him. And he and Samuel went and dwelt in Naioth. %%% Awo Dawudi n'adduka n'awona n'ajja eri Samwiri e Laama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda ne batuula e Nayosi. 09S1A019.019 And it was told Saul, saying, Behold, David is at Naioth in Ramah. %%% Ne babuulira Sawulo nti Laba, Dawudi ali e Nayosi mu Laama. 09S1A019.020 And Saul sent messengers to take David: and when they saw the company of the prophets prophesying, and Samuel standing as appointed over them, the Spirit of God was upon the messengers of Saul, and they also prophesied. %%% Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi: awo bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga balagula ne Samwiri ng'ayimiridde nga gwe mutwe gwabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, ne balagula nabo. 09S1A019.021 And when it was told Saul, he sent other messengers, and they prophesied likewise. And Saul sent messengers again the third time, and they prophesied also. %%% Awo bwe baamubuulira Sawulo, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne balagula. Awo Sawulo n'atuma ababaka nate omulundi ogw'okusatu, era nabo ne balagula. 09S1A019.022 Then went he also to Ramah, and came to a great well that is in Sechu: and he asked and said, Where are Samuel and David? And one said, Behold, they be at Naioth in Ramah. %%% Awo naye n'agenda e Laama, n'ajja awali oluzzi olunene oluli e Seku: n'abuuza n'ayogera nti Bali ludda wa Samwiri ne Dawudi? Ne waba eyayogera nti Laba, bali e Nayosi mu Laama. 09S1A019.023 And he went thither to Naioth in Ramah: and the Spirit of God was upon him also, and he went on, and prophesied, until he came to Naioth in Ramah. %%% N'agendayo e Nayosi mu Laama: omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye era, ne yeeyongerayo n'alagula okutuusa lwe yajja e Nayosi mu Laama. 09S1A019.024 And he stripped off his clothes also, and prophesied before Samuel in like manner, and lay down naked all that day and all that night. Wherefore they say, Is Saul also among the prophets? %%% Era naye ne yeeyambulamu engoye ze, naye n'alagulira mu maaso ga Samwiri n'agalamira nga taliiko ky'ayambadde n'azibya obudde obwo n'akeesa obudde. Kyebava boogera nti Ne Sawulo ali mu bannabbi? 09S1A020.001 And David fled from Naioth in Ramah, and came and said before Jonathan, What have I done? what is mine iniquity? and what is my sin before thy father, that he seeketh my life? %%% Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama n'ajja n'ayogerera mu maaso ga Yonasaani nti Nkoze ki? buluwa obutali butuukirivu bwange? era kiruwa ekibi kyange mu maaso ga kitaawo n'anoonya obulamu bwange? 09S1A020.002 And he said unto him, God forbid; thou shalt not die: behold, my father will do nothing either great or small, but that he will shew it me: and why should my father hide this thing from me? it is not so. %%% N'amugamba nti Kiddire eri; tojja kufa: laba, kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono ky'atambikkulira: era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? si bwe kiri. 09S1A020.003 And David sware moreover, and said, Thy father certainly knoweth that I have found grace in thine eyes; and he saith, Let not Jonathan know this, lest he be grieved: but truly as the LORD liveth, and as thy soul liveth, there is but a step between me and death. %%% N'okulayira Dawudi n'alayira n'ayogera nti Kitaawo amanyidde ddala nga bwe ŋŋanze mu maaso go; n'ayogera nti Yonasaani tamanyanga kino, aleme okunakuwala: naye mazima nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, wakati wange n'okufa wasigadde kata buta. 09S1A020.004 Then said Jonathan unto David, Whatsoever thy soul desireth, I will even do it for thee. %%% Awo Yonasaani n'alyoka agamba Dawudi nti Buli kintu emmeeme yo ky'eyagala kyonna okukola ndikukolera. 09S1A020.005 And David said unto Jonathan, Behold, to morrow is the new moon, and I should not fail to sit with the king at meat: but let me go, that I may hide myself in the field unto the third day at even. %%% Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Laba, enkya omwezi gunaaboneka, nange sandiremye kutuula ne kabaka ng'alya: naye ka ŋŋende neekweke mu nsiko okutuusa ku lunaku olw'okusatu akawungeezi. 09S1A020.006 If thy father at all miss me, then say, David earnestly asked leave of me that he might run to Bethlehem his city: for there is a yearly sacrifice there for all the family. %%% Kitaawo bw'anambuuza, n'olyoka oyogera nti Dawudi andaze n'anneegayirira nnyo leero agende mangu e Besirekemu ekyalo kye: kubanga ssaddaaka gy'eri eya buli mwaka ey'ennyumba ye yonna. 09S1A020.007 If he say thus, It is well; thy servant shall have peace: but if he be very wroth, then be sure that evil is determined by him. %%% Awo bw'anaayogera nti Bulungi; omuddu wo anaaba n'emirembe: naye bw'anaasunguwala, kale tegeera ng'ateesezza kabi. 09S1A020.008 Therefore thou shalt deal kindly with thy servant; for thou hast brought thy servant into a covenant of the LORD with thee: notwithstanding, if there be in me iniquity, slay me thyself; for why shouldest thou bring me to thy father? %%% Kale kola omuddu wo obulungi: kubanga wayingiza omuddu wo mu ndagaano ya Mukama naawe: naye oba ng'obutali butuukirivu buli mu nze, nzita wekka; kubanga wandindeetedde ki eri kitaawo? 09S1A020.009 And Jonathan said, Far be it from thee: for if I knew certainly that evil were determined by my father to come upon thee, then would not I tell it thee? %%% Yonasaani n'ayogera nti Kireme okukubaako n'akatono: kubanga mbeera kumanya n'akatono nga kitange ateesezza akabi okukujjako, kale sandikubuulidde? 09S1A020.010 Then said David to Jonathan, Who shall tell me? or what if thy father answer thee roughly? %%% Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Kitaawo bw'anaaba ng'akuzzeemu n'ebboggo alimbuulira ani? 09S1A020.011 And Jonathan said unto David, Come, and let us go out into the field. And they went out both of them into the field. %%% Yonasaani n'agamba Dawudi nti Jjangu tufulume tugende mu nsiko. Ne bafuluma bombi ne bagenda mu nsiko. 09S1A020.012 And Jonathan said unto David, O LORD God of Israel, when I have sounded my father about to morrow any time, or the third day, and, behold, if there be good toward David, and I then send not unto thee, and shew it thee; %%% Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, abeere mujulirwa; bwe nnaaba nga mmaze okukemekkereza kitange nga mu kiseera kino enkya oba ku lw'okusatu, laba, bwe waliba obulungi eri Dawudi, kale sirikutumira ne nkikubikkulira? 09S1A020.013 The LORD do so and much more to Jonathan: but if it please my father to do thee evil, then I will shew it thee, and send thee away, that thou mayest go in peace: and the LORD be with thee, as he hath been with my father. %%% Mukama akole bw'atyo Yonasaani n'okukirawo, kitange bw'aliba ng'asiimye okukukola obubi, ne sikikubikkulira ne nkusindika ogende mirembe: era Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange. 09S1A020.014 And thou shalt not only while yet I live shew me the kindness of the LORD, that I die not: %%% Naawe olindaga ekisa kya Mukama nga nkyali mulamu, nneme okufa; 09S1A020.015 But also thou shalt not cut off thy kindness from my house for ever: no, not when the LORD hath cut off the enemies of David every one from the face of the earth. %%% so si kukoma ku ekyo kyokka, era naye n'ennaku zonna tolisalako kisa kyo ku nnyumba yange weewaawo, okutuusa Mukama lw'alimala okusalako abalabe ba Dawudi buli omu ku nsi yonna. 09S1A020.016 So Jonathan made a covenant with the house of David, saying, Let the LORD even require it at the hand of David's enemies. %%% Awo Yonasaani n'alagaana endagaano n'ennyumba ya Dawudi nti Ne Mukama aligivunaana mu mukono gw'abalabe ba Dawudi. 09S1A020.017 And Jonathan caused David to swear again, because he loved him: for he loved him as he loved his own soul. %%% Yonasaani n'alayiza Dawudi nate, o1w'okwagala kwe yamwagala: kubanga yamwagala nga bwe yayagala emmeeme ye ye. 09S1A020.018 Then Jonathan said to David, To morrow is the new moon: and thou shalt be missed, because thy seat will be empty. %%% Awo Yonasaani n'alyoka amugamba nti Enkya omwezi gunaaboneka: era banaakumagamaga, kubanga entebe yo eneeba njereere. 09S1A020.019 And when thou hast stayed three days, then thou shalt go down quickly, and come to the place where thou didst hide thyself when the business was in hand, and shalt remain by the stone Ezel. %%% Awo bw'olimala ennaku ssatu, n'oserengeta mangu n'ojja mu kifo mwe weekwekera ekigambo ekyo bwe kyaliwo, n'obeera awali ejjinja Ezeri: 09S1A020.020 And I will shoot three arrows on the side thereof, as though I shot at a mark. %%% Nange ndirasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, nga nteeba sabbaawa. 09S1A020.021 And, behold, I will send a lad, saying, Go, find out the arrows. If I expressly say unto the lad, Behold, the arrows are on this side of thee, take them; then come thou: for there is peace to thee, and no hurt; as the LORD liveth. %%% Kale, laba, ndituma omwana nga njogera nti Genda onoonye obusaale. Bwe ndigamba omwana nti Laba, obusaale buli ku luuyi luno gye ndi: kale n'obutwala n'ojja; kubanga waliwo emirembe gy'oli so tewali kabi, nga Mukama bw'ali omulamu. 09S1A020.022 But if I say thus unto the young man, Behold, the arrows are beyond thee; go thy way: for the LORD hath sent thee away. %%% Naye bwe ndigamba omwana bwe ntyo nti Laba, obusaale buli ku luuyi olw'omumaaso go: kale ne weddukira: kubanga Mukama ng'akusindise. 09S1A020.023 And as touching the matter which thou and I have spoken of, behold, the LORD be between thee and me for ever. %%% Era ekigambo ekyo kye twayogerako ggwe nange, laba, Mukama ali wakati wo nange ennaku zonna. 09S1A020.024 So David hid himself in the field: and when the new moon was come, the king sat him down to eat meat. %%% Awo Dawudi ne yeekweka mu nsiko: awo omwezi bwe gwaboneka, kabaka ne yeetuulira okulya ku mmere. 09S1A020.025 And the king sat upon his seat, as at other times, even upon a seat by the wall: and Jonathan arose, and Abner sat by Saul's side, and David's place was empty. %%% Kabaka n'atuula ku ntebe ye ng'olulala, ye ntebe eriraanye ekisenge; Yonasaani n'ayimirira. Abuneeri n'atuula ku lubiriizi lwa Sawulo: naye entebe ya Dawudi yali njereere. 09S1A020.026 Nevertheless Saul spake not any thing that day: for he thought, Something hath befallen him, he is not clean; surely he is not clean. %%% Naye Sawulo teyaliiko kye yayogera ku lunaku olwo: kubanga yalowooza nti Aliko ky'abadde, si mulongoofu; mazima si mulongoofu. 09S1A020.027 And it came to pass on the morrow, which was the second day of the month, that David's place was empty: and Saul said unto Jonathan his son, Wherefore cometh not the son of Jesse to meat, neither yesterday, nor to day? %%% Awo olwatuuka enkya omwezi nga gumaze okuboneka, lwe lunaku olw'okubiri, entebe ya Dawudi n'eba njereere: Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we nti Kiki ekirobera mutabani wa Yese okujja ku mmere newakubadde jjo newakubadde leero? 09S1A020.028 And Jonathan answered Saul, David earnestly asked leave of me to go to Bethlehem: %%% Yonasaani n'addamu Sawulo nti Dawudi yandaga ng'anneegayirira nnyo okugenda e Besirekemu: 09S1A020.029 And he said, Let me go, I pray thee; for our family hath a sacrifice in the city; and my brother, he hath commanded me to be there: and now, if I have found favour in thine eyes, let me get away, I pray thee, and see my brethren. Therefore he cometh not unto the king's table. %%% n'ayogera nti Leka ŋŋende, nkwegayiridde; kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka mu kyalo; ne muganda wange yandagira okubaawo: kale nno oba nga ŋŋanze mu maaso go, leka ŋŋende, nkwegayiridde, ndabe baganda bange. Kyeyava alema okujja ku mmeeza ya kabaka. 09S1A020.030 Then Saul's anger was kindled against Jonathan, and he said unto him, Thou son of the perverse rebellious woman, do not I know that thou hast chosen the son of Jesse to thine own confusion, and unto the confusion of thy mother's nakedness? %%% Awo obusungu ne bukwata Sawulo eri Yonasaani n'amugamba nti Ggwe omwana w'omukazi omukakanyavu omujeemu, simanyi nga walonda mutabani wa Yese okwekwasa ensonyi, n'okukwasa ensonyi obwereere bwa nnyoko? 09S1A020.031 For as long as the son of Jesse liveth upon the ground, thou shalt not be established, nor thy kingdom. Wherefore now send and fetch him unto me, for he shall surely die. %%% Kuba mutabani wa Yese ng'akyali mulamu ku ttaka, tolinywezebwa ggwe newakubadde obwakabaka bwo. Kale nno kaakano tuma omunkimire, kubanga taaleme kufa. 09S1A020.032 And Jonathan answered Saul his father, and said unto him, Wherefore shall he be slain? what hath he done? %%% Yonasaani n'addamu Sawulo kitaawe n'amugamba nti Ekinaaba kimussa kiki? akoze ki? Sawulo n'akasuka effumu lye okumufumita: Yonasaani kwe yategeerera kitaawe ng'amaliridde okutta Dawudi. 09S1A020.033 And Saul cast a javelin at him to smite him: whereby Jonathan knew that it was determined of his father to slay David. %%% Sawulo n'akasuka effumu lye okumnfumita: Yonasaani kwe yategeerera kitaawe ng'amaliridde okutta Dawudi. 09S1A020.034 So Jonathan arose from the table in fierce anger, and did eat no meat the second day of the month: for he was grieved for David, because his father had done him shame. %%% Awo Yonasaani. n'agolokoka ku mmeeza ng'aliko ekiruyi kingi, n'atalya ku mmere yonna ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi: kubanga yanakuwala olwa Dawudi, kubanga kitaawe yali amuwemukidde. 09S1A020.035 And it came to pass in the morning, that Jonathan went out into the field at the time appointed with David, and a little lad with him. %%% Awo olwatuuka enkya Yonasaani n'afuluma n'agenda mu nsiko mu kiseera kye yalagaana ne Dawudi, n'omulenzi omuto ng'ali naye. 09S1A020.036 And he said unto his lad, Run, find out now the arrows which I shoot. And as the lad ran, he shot an arrow beyond him. %%% N'agamba omulenzi we nti Dduka onoonye nno obusaale bwe ndasa. Omulenzi ng'adduka n'alasa akasaale ku luuyi olw'omu maaso ge. 09S1A020.037 And when the lad was come to the place of the arrow which Jonathan had shot, Jonathan cried after the lad, and said, Is not the arrow beyond thee? %%% Awo omulenzi bwe yatuuka mu kifo eky'akasaale Yonasaani ky'alasizza, Yonasaani n’akoowoola omulenzi n'ayogera nti Akasaale tekali ku luuyi olw'omu maaso go? 09S1A020.038 And Jonathan cried after the lad, Make speed, haste, stay not. And Jonathan's lad gathered up the arrows, and came to his master. %%% Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti Dduka, yanguwa, tolwawo. Omulenzi wa Yonasaani n'alonda obusaale, n'ajja eri mukama we. 09S1A020.039 But the lad knew not any thing: only Jonathan and David knew the matter. %%% Naye omulenzi teyaliiko kye yategeera: Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya ekigambo. 09S1A020.040 And Jonathan gave his artillery unto his lad, and said unto him, Go, carry them to the city. %%% Awo Yonasaani n'awa omulenzi we ebintu bye, n'amugamba nti Genda ozitwale mu kibuga. 09S1A020.041 And as soon as the lad was gone, David arose out of a place toward the south, and fell on his face to the ground, and bowed himself three times: and they kissed one another, and wept one with another, until David exceeded. %%% Awo omulenzi ng'agenze Dawudi n'agolokoka mu kifo ekyali ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'avuunama amaaso ge n'akutama emirundi esatu: ne banywegeragana ne bakaaba bokka na bokka okutuusa Dawudi lwe yayingiriza, 09S1A020.042 And Jonathan said to David, Go in peace, forasmuch as we have sworn both of us in the name of the LORD, saying, The LORD be between me and thee, and between my seed and thy seed for ever. And he arose and departed: and Jonathan went into the city. %%% Yonasaani n'agamba Dawudi nti Genda mirembe kubanga tulayidde fembi mu linnya lya Mukama nga twogera nti Mukama anaabanga wakati wange naawe era wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo, ennaku zonna. N'agolokoka n'agenda: Yonasaani n'ayingira mu kibuga. 09S1A021.001 Then came David to Nob to Ahimelech the priest: and Ahimelech was afraid at the meeting of David, and said unto him, Why art thou alone, and no man with thee? %%% Awo Dawudi n'atuuka e Nobu eri Akimereki kabona: Akimereki n'ajja okusisinkana Dawudi ng'akankana n'amugamba nti Obeeredde ki omu, so tewali muntu naawe? 09S1A021.002 And David said unto Ahimelech the priest, The king hath commanded me a business, and hath said unto me, Let no man know any thing of the business whereabout I send thee, and what I have commanded thee: and I have appointed my servants to such and such a place. %%% Dawudi n'agamba Akimereki kabona nti Kabaka yantuma omulimu n'aŋŋamba ati Tewaba muntu anaamanya ekigambo kyonna eky'omulimu gwe nkutuma newakubadde bye nkulagidde: era n'abalagira abalenzi egindi n'egindi. 09S1A021.003 Now therefore what is under thine hand? give me five loaves of bread in mine hand, or what there is present. %%% Kale nno kiki ekiri wansi w'omukono gwo? mpa emigaati etaano mu mukono gwange oba kyonna ekiriwo. 09S1A021.004 And the priest answered David, and said, There is no common bread under mine hand, but there is hallowed bread; if the young men have kept themselves at least from women. %%% Awo kabona n'addamu Dawudi n'ayogera nti Tewali mugaati bugaati wansi w'omukono gwange, naye omugaati omutukuvu gwe guliwo; kyokka abalenzi oba nga beekuumye obutakwata ku bakazi. 09S1A021.005 And David answered the priest, and said unto him, Of a truth women have been kept from us about these three days, since I came out, and the vessels of the young men are holy, and the bread is in a manner common, yea, though it were sanctified this day in the vessel. %%% Dawudi n'addamu kabona n'amugamba nti Mazima twaziyizibwa okuba n'abakazi ennaku nga ssatu; bwe nnavaayo, ebintu by'abalenzi byali bitukuvu, newakubadde nga lugendo bugendo; kale leero ebintu byabwe tebirisinga nnyo kuba bitukuvu? 09S1A021.006 So the priest gave him hallowed bread: for there was no bread there but the shewbread, that was taken from before the LORD, to put hot bread in the day when it was taken away. %%% Awo kabona n'amuwa emigaati emitukuvu: kubanga teyaliiyo mugaati wabula emigaati egy'okulaga, egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, okussaawo emigaati egibuguma ku lunaku kwe gyaggirwawo. 09S1A021.007 Now a certain man of the servants of Saul was there that day, detained before the LORD; and his name was Doeg, an Edomite, the chiefest of the herdmen that belonged to Saul. %%% Era omuntu ow'oku baddu ba Sawulo yaliyo ku lunaku olwo, ng'aziyizibwa mu maaso ga Mukama; n'erinnya lye yali Dowegi Omwedomu, omukulu w'abasumba ba Sawulo. 09S1A021.008 And David said unto Ahimelech, And is there not here under thine hand spear or sword? for I have neither brought my sword nor my weapons with me, because the king's business required haste. %%% Dawudi n'agamba Akimereki nti Era tewali wano ffumu newakubadde ekitala wansi w'omukono gwo? kubanga saaleeta wamu mange kitala kyange newakubadde ebyokulwanyisa byange, kubanga omulimu gwa kabaka gwali gwa kwanguwa. 09S1A021.009 And the priest said, The sword of Goliath the Philistine, whom thou slewest in the valley of Elah, behold, it is here wrapped in a cloth behind the ephod: if thou wilt take that, take it: for there is no other save that here. And David said, There is none like that; give it me. %%% Kabona n'ayogera nti Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, laba, kiri wano nga kizingiddwa mu kiwero ennyuma w'ekkanzu: oba oyagala okutwala ekyo, kitwale; kubanga tewali kirala wano wabula ekyo. Dawudi n'ayogera nti Tewali kikyenkana ekyo; kimpe. 09S1A021.010 And David arose, and fled that day for fear of Saul, and went to Achish the king of Gath. %%% Awo Dawudi n'agolokoka n'adduka ku lunaku olwo olw'okutya Sawulo, n'agenda eri Akisi kabaka w'e Gaasi. 09S1A021.011 And the servants of Achish said unto him, Is not this David the king of the land? did they not sing one to another of him in dances, saying, Saul hath slain his thousands, and David his ten thousands? %%% Abaddu ba Akisi ne bamugamba nti Dawudi oyo si ye kabaka w'ensi? tebaayimbiragana ku ye nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe? 09S1A021.012 And David laid up these words in his heart, and was sore afraid of Achish the king of Gath. %%% Dawudi n'atereka ebigambo ebyo mu mutima gwe, n'atya nnyo Akisi kabaka w'e Gaasi. 09S1A021.013 And he changed his behaviour before them, and feigned himself mad in their hands, and scrabbled on the doors of the gate, and let his spittle fall down upon his beard. %%% Awo n'awaanyisa empisa ze mu maaso gaabwe, ne yeeralusalalusa mu mikono gyabwe, n’ayagulayagula ku nzigi eza wankaaki, n'akulukusa amalusu mu birevu bye. 09S1A021.014 Then said Achish unto his servants, Lo, ye see the man is mad: wherefore then have ye brought him to me? %%% Awo Akisi n'alyoka agamba abaddu be nti Abaffe, mulabye omusajja ng'aguddemu eddalu: kale mumuleetedde ki gye ndi? 09S1A021.015 Have I need of mad men, that ye have brought this fellow to play the mad man in my presence? shall this fellow come into my house? %%% Mbuliddwa abalalu n'okuleeta ne muleeta olusajja luno okulalukira mu maaso gange? olusajja luno lunaayingira mu nnyumba yange? 09S1A022.001 David therefore departed thence, and escaped to the cave Adullam: and when his brethren and all his father's house heard it, they went down thither to him. %%% Dawudi kyeyava avaayo, n'adduka n'atuuka ku mpuku ya Adulamu: awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe baakiwulira, ne baserengeta ne bagendayo gy'ali. 09S1A022.002 And every one that was in distress, and every one that was in debt, and every one that was discontented, gathered themselves unto him; and he became a captain over them: and there were with him about four hundred men. %%% Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bakuŋŋaana gy'ali; n'afuuka omukulu waabwe: awo ne waba naye abasajja nga bikumi bina. 09S1A022.003 And David went thence to Mizpeh of Moab: and he said unto the king of Moab, Let my father and my mother, I pray thee, come forth, and be with you, till I know what God will do for me. %%% Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupa ekya Mowaabu: n'agamba kabaka wa Mowaabu nti Kitange ne mmange bafulume babe nammwe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera. 09S1A022.004 And he brought them before the king of Moab: and they dwelt with him all the while that David was in the hold. %%% Awo n'abaleeta mu maaso ga kabaka wa Mowaabu: ne batuula naye ekiseera kyonna Dawudi ng'akyali mu mpuku. 09S1A022.005 And the prophet Gad said unto David, Abide not in the hold; depart, and get thee into the land of Judah. Then David departed, and came into the forest of Hareth. %%% Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti Tobeera mu mpuku; genda, otuuke mu nsi ya Yuda. Awo 09S1A022.006 When Saul heard that David was discovered, and the men that were with him, (now Saul abode in Gibeah under a tree in Ramah, having his spear in his hand, and all his servants were standing about him;) %%% Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi alabise n'abasajja abaali naye: era Sawulo yali atudde e Gibeya, munda w'omumyuliru mu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna baali bayimiridde okumwetooloola. 09S1A022.007 Then Saul said unto his servants that stood about him, Hear now, ye Benjamites; will the son of Jesse give every one of you fields and vineyards, and make you all captains of thousands, and captains of hundreds; %%% Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli muntu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, alibafuula mwenna okuba abaami b'enkumi era abaami b'ebikumi; 09S1A022.008 That all of you have conspired against me, and there is none that sheweth me that my son hath made a league with the son of Jesse, and there is none of you that is sorry for me, or sheweth unto me that my son hath stirred up my servant against me, to lie in wait, as at this day? %%% mwenna ne muneekobaana, so tewali ambikkulira mutabani wange bw'alagaana endagaano ne mutabani wa Yese, so tewali ku mmwe ansaasidde, newakubadde antegeeza nga mutabani wange yampererera omuddu wange okuteega nga leero? 09S1A022.009 Then answered Doeg the Edomite, which was set over the servants of Saul, and said, I saw the son of Jesse coming to Nob, to Ahimelech the son of Ahitub. %%% Awo Dowegi Omwedomu, eyayimirira awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti Nalaba mutabani wa Yese ng'ajja e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akitubu. 09S1A022.010 And he enquired of the LORD for him, and gave him victuals, and gave him the sword of Goliath the Philistine. %%% N'amubuuliza eri Mukama n'amuwa ebyokulya n'amuwa ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti. 09S1A022.011 Then the king sent to call Ahimelech the priest, the son of Ahitub, and all his father's house, the priests that were in Nob: and they came all of them to the king. %%% Awo kabaka n'alyoka atuma okuyita Akimereki kabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe: bakabona abaali e Nobu ne bajja bonna eri kabaka. 09S1A022.012 And Saul said, Hear now, thou son of Ahitub. And he answered, Here I am, my lord. %%% Sawulo n'ayogera nti Wulira nno, ggwe mutabani wa Akitubu. N'addamu nti Nze nzuuno, mukama wange. 09S1A022.013 And Saul said unto him, Why have ye conspired against me, thou and the son of Jesse, in that thou hast given him bread, and a sword, and hast enquired of God for him, that he should rise against me, to lie in wait, as at this day? %%% Sawulo n'amugamba nti Mwanneekobaanira ki, ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala; n'omubuuliza eri Katonda, angolokokereko, okuteega nga leero? 09S1A022.014 Then Ahimelech answered the king, and said, And who is so faithful among all thy servants as David, which is the king's son in law, and goeth at thy bidding, and is honourable in thine house? %%% Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti Era ani ku baddu bo bonna amwenkana Dawudi obwesigwa, ye mukoddomi wa kabaka, era ayingizibwa mu kuteesa kwo era ow'ekitiibwa mu nnyumba yo? 09S1A022.015 Did I then begin to enquire of God for him? be it far from me: let not the king impute any thing unto his servant, nor to all the house of my father: for thy servant knew nothing of all this, less or more. %%% Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? kiddire eri: kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna: kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi. 09S1A022.016 And the king said, Thou shalt surely die, Ahimelech, thou, and all thy father's house. %%% Kabaka n'ayogera nti Tooleme kufa, Akimereki, ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna, 09S1A022.017 And the king said unto the footmen that stood about him, Turn, and slay the priests of the LORD: because their hand also is with David, and because they knew when he fled, and did not shew it to me. But the servants of the king would not put forth their hand to fall upon the priests of the LORD. %%% Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira. Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama. 09S1A022.018 And the king said to Doeg, Turn thou, and fall upon the priests. And Doeg the Edomite turned, and he fell upon the priests, and slew on that day fourscore and five persons that did wear a linen ephod. %%% Awo kabaka n'agamba Dowegi nti Kyuka ggwe obagweko bakabona. Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'agwa ku bakabona, n'atta ku lunaku olwo abantu kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu eya bafuta. 09S1A022.019 And Nob, the city of the priests, smote he with the edge of the sword, both men and women, children and sucklings, and oxen, and asses, and sheep, with the edge of the sword. %%% Ne Nobu, ekibuga kya bakabona, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, abasajja era n'abakazi, abaana abato n'abayonka, n'ente n'endogoyi n'endiga, n'obwogi bw'ekitala. 09S1A022.020 And one of the sons of Ahimelech the son of Ahitub, named Abiathar, escaped, and fled after David. %%% Awo omwana omu owa Akimereki, mutabani wa Akitubu, erinnya lye Abiyasaali, n'awona n'adduka okugoberera Dawudi. 09S1A022.021 And Abiathar shewed David that Saul had slain the LORD's priests. %%% Abiyasaali n'abuulira Dawudi Sawulo ng'asse bakabona ba Mukama. 09S1A022.022 And David said unto Abiathar, I knew it that day, when Doeg the Edomite was there, that he would surely tell Saul: I have occasioned the death of all the persons of thy father's house. %%% Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali nti Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga talirema kumubuulira Sawulo: nze nassa abantu bonna ab'omu nnyumba ya kitaawo. 09S1A022.023 Abide thou with me, fear not: for he that seeketh my life seeketh thy life: but with me thou shalt be in safeguard. %%% Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo anoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo: kubanga awali nze onoobanga mirembe. 09S1A023.001 Then they told David, saying, Behold, the Philistines fight against Keilah, and they rob the threshingfloors. %%% Awo ne babuulira Dawudi nti Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyaga amawuuliro. 09S1A023.002 Therefore David enquired of the LORD, saying, Shall I go and smite these Philistines? And the LORD said unto David, Go, and smite the Philistines, and save Keilah. %%% Dawudi kyeyava abuuza Mukama nti ŋŋende nkube Abafirisuuti abo? Mukama n'agamba Dawudi nti Genda okube Abafirisuuti olokole Keyira. 09S1A023.003 And David's men said unto him, Behold, we be afraid here in Judah: how much more then if we come to Keilah against the armies of the Philistines? %%% Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, tutiiridde wano mu Yuda: kale tetulisinga nnyo bwe tuligenda e Keyira okulwana n'eggye ly'Abafirisuuti? 09S1A023.004 Then David enquired of the LORD yet again. And the LORD answered him and said, Arise, go down to Keilah; for I will deliver the Philistines into thine hand. %%% Awo Dawudi n'alyoka abuuza Mukama nate olw'okubiri. Mukama n'amuddamu n'ayogera nti Golokoka oserengete ogende e Keyira; kubanga ndigabula Abafirisuuti mu mukono gwo. 09S1A023.005 So David and his men went to Keilah, and fought with the Philistines, and brought away their cattle, and smote them with a great slaughter. So David saved the inhabitants of Keilah. %%% Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne banyaga ente zaabwe, ne babatta olutta olunene. Awo Dawudi n'alokola abaatuula e Keyira. 09S1A023.006 And it came to pass, when Abiathar the son of Ahimelech fled to David to Keilah, that he came down with an ephod in his hand. %%% Awo olwatuuka, Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yadduka eri Dawudi e Keyira, yaserengeta ng'alina ekkanzu mu mukono gwe. 09S1A023.007 And it was told Saul that David was come to Keilah. And Saul said, God hath delivered him into mine hand; for he is shut in, by entering into a town that hath gates and bars. %%% Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti Katonda amugabudde mu mukono gwange: kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba. 09S1A023.008 And Saul called all the people together to war, to go down to Keilah, to besiege David and his men. %%% Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okutabaala, okuserengeta okugenda e Keyira, okuzingiza Dawudi n'abasajja be. 09S1A023.009 And David knew that Saul secretly practised mischief against him; and he said to Abiathar the priest, Bring hither the ephod. %%% Dawudi n'ategeera Sawulo ng'amwagaliza akabi; n'agamba Abiyasaali kabona nti Leeta wano ekkanzu. 09S1A023.010 Then said David, O LORD God of Israel, thy servant hath certainly heard that Saul seeketh to come to Keilah, to destroy the city for my sake. %%% Awo Dawudi n'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, omuddu wo awuliridde ddala Sawulo nga ayagala okujja e Keyira, okuzikiriza ekibuga ku lwange. 09S1A023.011 Will the men of Keilah deliver me up into his hand? will Saul come down, as thy servant hath heard? O LORD God of Israel, I beseech thee, tell thy servant. And the LORD said, He will come down. %%% Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo. Mukama n'ayogera nti Aliserengeta. 09S1A023.012 Then said David, Will the men of Keilah deliver me and my men into the hand of Saul? And the LORD said, They will deliver thee up. %%% Awo Dawudi n'alyoka ayogera nti Abasajja ab'e Keyira balimpaayo nze n'abasajja bange mu mukono gwa Sawulo? Mukama n'ayogera nti Balikuwaayo. 09S1A023.013 Then David and his men, which were about six hundred, arose and departed out of Keilah, and went whithersoever they could go. And it was told Saul that David was escaped from Keilah; and he forbare to go forth. %%% Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga ne bagolokoka ne bagenda okuva mu Keyira ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Ne babuulira Sawulo Dawudi ng'awonye okuva mu Keyira: n'alekayo okutabaala. 09S1A023.014 And David abode in the wilderness in strong holds, and remained in a mountain in the wilderness of Ziph. And Saul sought him every day, but God delivered him not into his hand. %%% Awo Dawudi n'atuula mu ddungu mu bigo, n'abeera mu nsi ey'ensozi mu ddungu ery'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atamugabula mu mukono gwe. 09S1A023.015 And David saw that Saul was come out to seek his life: and David was in the wilderness of Ziph in a wood. %%% Dawudi n'alaba nga Sawulo atabadde okunoonya obulamu bwe: era Dawudi yali mu ddungu ery'e Zifu mu kibira. 09S1A023.016 And Jonathan Saul's son arose, and went to David into the wood, and strengthened his hand in God. %%% Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agolokoka, n'agenda eri Dawudi mu kibira, n'anyweza omukono gwe mu Katonda. 09S1A023.017 And he said unto him, Fear not: for the hand of Saul my father shall not find thee; and thou shalt be king over Israel, and I shall be next unto thee; and that also Saul my father knoweth. %%% N'amugamba nti Totya; kubanga omukono gwa Sawulo kitange tegulikulaba; era gw'oliba kabaka wa Isiraeri nange ndikuddirira obukulu; era n'ekyo Sawulo kitange akimanyi, 09S1A023.018 And they two made a covenant before the LORD: and David abode in the wood, and Jonathan went to his house. %%% Awo abo bombi ne balagaanira endagaano mu maaso ga Mukama: Dawudi n'abeera mu kibira, Yonasaani n'addayo mu nnyumba ye. 09S1A023.019 Then came up the Ziphites to Saul to Gibeah, saying, Doth not David hide himself with us in strong holds in the wood, in the hill of Hachilah, which is on the south of Jeshimon? %%% Awo ab'e Zifu ne bambuka ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera nti Dawudi teyeekweka ewaffe mu bigo mu kibira ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'eddungu? 09S1A023.020 Now therefore, O king, come down according to all the desire of thy soul to come down; and our part shall be to deliver him into the king's hand. %%% Kale nno kaakano, ai kabaka, serengeta, ng'emmeeme yo yonna bw'eyagala okuserengeta; naffe okumuwaayo mu mukono gwa kabaka kuliba kwaffe. 09S1A023.021 And Saul said, Blessed be ye of the LORD; for ye have compassion on me. %%% Sawulo n'ayogera nti Muweebwe Mukama omukisa; kubanga munsaasidde. 09S1A023.022 Go, I pray you, prepare yet, and know and see his place where his haunt is, and who hath seen him there: for it is told me that he dealeth very subtilly. %%% Mugende, mbeegayiridde, mweyongere okwetegereza, mumanye mulabe ekifo kye w'abeera n'eyamulabayo: kubanga bambuulira nti alina obugerengetanya bungi nnyo. 09S1A023.023 See therefore, and take knowledge of all the lurking places where he hideth himself, and come ye again to me with the certainty, and I will go with you: and it shall come to pass, if he be in the land, that I will search him out throughout all the thousands of Judah. %%% Kale mulabe, muzige ebifo byonna mw'ateegera mwe yeekweka, mukomewo gye ndi so temulema kujja, nange ndigenda nammwe: awo olulituuka, oba ng'ali mu nsi, ndimunoonya ne mmulaba mu nkumi zonna eza Yuda. 09S1A023.024 And they arose, and went to Ziph before Saul: but David and his men were in the wilderness of Maon, in the plain on the south of Jeshimon. %%% Awo ne bagolokoka ne bagenda e Zifu okukulembera Sawulo: naye Dawudi n'abasajja be baali mu ddungu ery'e Mawoni, mu Alaba ku luuyi olw'eddungu olw'obukiika obwa ddyo. 09S1A023.025 Saul also and his men went to seek him. And they told David: wherefore he came down into a rock, and abode in the wilderness of Maon. And when Saul heard that, he pursued after David in the wilderness of Maon. %%% Sawulo n'abasajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi; kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ery'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'agoberera Dawudi mu ddungu ery'e Mawoni. 09S1A023.026 And Saul went on this side of the mountain, and David and his men on that side of the mountain: and David made haste to get away for fear of Saul; for Saul and his men compassed David and his men round about to take them. %%% Sawulo n'agenda ku mabbali g'olusozi eruuyi, ne Dawudi n'abasajja be ku mabbali g'olusozi eruuyi: Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okutya Sawulo; kubanga Sawulo n'abasajja be baazingiza Dawudi n'abasajja be enjuyi zonna okubakwata. 09S1A023.027 But there came a messenger unto Saul, saying, Haste thee, and come; for the Philistines have invaded the land. %%% Naye ne wajja omubaka eri Sawulo ng'ayogera nti Yanguwako ojje; kubanga Abafirisuuti bakwekwese mu nsi. 09S1A023.028 Wherefore Saul returned from pursuing after David, and went against the Philistines: therefore they called that place Selahammahlekoth. %%% Awo Sawulo n'alekayo okugoberera Dawudi n'addayo, n'atabaala Abafirisuuti: ekifo ekyo kyebaava bakiyita Serakammalekosi. 09S1A023.029 And David went up from thence, and dwelt in strong holds at Engedi. %%% Awo Dawudi n'avaayo n'ayambuka n'abeera mu bigo ebya Engedi. 09S1A024.001 And it came to pass, when Saul was returned from following the Philistines, that it was told him, saying, Behold, David is in the wilderness of Engedi. %%% Awo olwatuuka Sawulo bwe yakomawo ng'amaze okugoberera Abafirisuuti, ne bamubuulira nti Laba, Dawudi ali mu ddungu erya Engedi. 09S1A024.002 Then Saul took three thousand chosen men out of all Israel, and went to seek David and his men upon the rocks of the wild goats. %%% Awo Sawulo n’atwala abasajja enkumi ssatu abaalondebwa mu Isiraeri yenna, n'agenda okunoonya Dawudi n'abasajja be ku njazi ez'embulabuzi. 09S1A024.003 And he came to the sheepcotes by the way, where was a cave; and Saul went in to cover his feet: and David and his men remained in the sides of the cave. %%% N'ajja ku bisibo by'endiga mu kkubo awali empuku; Sawulo n'ayingira okubikka ku bigere bye. Era Dawudi n’abasajja be baali batudde mu bifo eby'omu mpuku ebyakomererayo munda. 09S1A024.004 And the men of David said unto him, Behold the day of which the LORD said unto thee, Behold, I will deliver thine enemy into thine hand, that thou mayest do to him as it shall seem good unto thee. Then David arose, and cut off the skirt of Saul's robe privily. %%% Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, olunaku Mukama lwe yakugambako nti Laba, ndigabula omulabe wo mu mukono gwo, era olimukola nga bw'olisiima. Awo Dawudi n'agolokoka n’asala ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo mu kyama. 09S1A024.005 And it came to pass afterward, that David's heart smote him, because he had cut off Saul's skirt. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala ku kirenge kya Sawulo. 09S1A024.006 And he said unto his men, The LORD forbid that I should do this thing unto my master, the LORD's anointed, to stretch forth mine hand against him, seeing he is the anointed of the LORD. %%% N'agamba abasajja be nti Mukama akiddize eri nze okukola mukama wange Mukama gwe yafukako amafuta ekigambo kino, okumugololera omukono gwange kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 09S1A024.007 So David stayed his servants with these words, and suffered them not to rise against Saul. But Saul rose up out of the cave, and went on his way. %%% Awo Dawudi n’aziyiza abasajja be n'ebigambo ebyo, n'atabaganya kumugolokokerako Sawulo. Awo Sawulo n'agolokoka n'ava mu mpuku n’agenda. 09S1A024.008 David also arose afterward, and went out of the cave, and cried after Saul, saying, My lord the king. And when Saul looked behind him, David stooped with his face to the earth, and bowed himself. %%% Awo ne Dawudi n'agolokoka oluvannyuma n'ava mu mpuku n'akoowoola Sawulo ng'ayogera nti Mukama wange kabaka. Awo Sawulo bwe yakebuka, Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. 09S1A024.009 And David said to Saul, Wherefore hearest thou men's words, saying, Behold, David seeketh thy hurt? %%% Dawudi n'agamba Sawulo nti Kiki ekikuwuliza ebigambo by'abantu nga boogera nti Laba, Dawudi ayagala okukukola akabi? 09S1A024.010 Behold, this day thine eyes have seen how that the LORD had delivered thee to day into mine hand in the cave: and some bade me kill thee: but mine eye spared thee; and I said, I will not put forth mine hand against my lord; for he is the LORD's anointed. %%% Laba, leero amaaso go galabye Mukama bw'abadde akugabudde mu mukono gwange leero mu mpuku: era wabaddewo abaŋŋambye okukutta: naye eriiso lyange ne likusaasira; ne ŋŋamba nti Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange; kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 09S1A024.011 Moreover, my father, see, yea, see the skirt of thy robe in my hand: for in that I cut off the skirt of thy robe, and killed thee not, know thou and see that there is neither evil nor transgression in mine hand, and I have not sinned against thee; yet thou huntest my soul to take it. %%% Era, kitange, laba, weewaawo, laba, ekirenge ky'ekyambalo kyo mu ngalo zange; kale kubanga nsaze ku kirenge ky'ekyambalo kyo ne sikutta, tegeera olabe nga tewali kabi newakubadde ekyonoono mu mukono gwange; so sikusobezza newakubadde ng'oyigganya obulamu bwange okubukwata: 09S1A024.012 The LORD judge between me and thee, and the LORD avenge me of thee: but mine hand shall not be upon thee. %%% Mukama asale omusango wakati wange naawe, Mukama akuwalaneko eggwanga lyange: naye, omukono gwange teguliba ku ggwe. 09S1A024.013 As saith the proverb of the ancients, Wickedness proceedeth from the wicked: but mine hand shall not be upon thee. %%% Ng'olugero olw'ab'edda bwe lwogera nti Mu babi mwe muva obubi: naye omukono gwange teguliba ku ggwe. 09S1A024.014 After whom is the king of Israel come out? after whom dost thou pursue? after a dead dog, after a flea. %%% Kabaka wa Isiraeri atabadde ani? ogoberera ani? ogoberera embwa enfu, enkukunyi. 09S1A024.015 The LORD therefore be judge, and judge between me and thee, and see, and plead my cause, and deliver me out of thine hand. %%% Kale Mukama abe mulamuzi, asale omusango gwange n'ogugwo, alabe awoze ensonga yange andokole mu mukono gwo. 09S1A024.016 And it came to pass, when David had made an end of speaking these words unto Saul, that Saul said, Is this thy voice, my son David? And Saul lifted up his voice, and wept. %%% Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Sawulo n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba amaziga. 09S1A024.017 And he said to David, Thou art more righteous than I: for thou hast rewarded me good, whereas I have rewarded thee evil. %%% N'agamba Dawudi nti Ggwe onsinga obutuukirivu: kubanga onsasudde obulungi, naye nze nkusasudde obubi. 09S1A024.018 And thou hast shewed this day how that thou hast dealt well with me: forasmuch as when the LORD had delivered me into thine hand, thou killedst me not. %%% Era oyatudde leero bw'onkoze obulungi: kuba Mukama ng'angabudde mu mukono gwo n'otonzita. 09S1A024.019 For if a man find his enemy, will he let him go well away? wherefore the LORD reward thee good for that thou hast done unto me this day. %%% Kubanga omuntu bw'asanga omulabe we, anaamuganya okugenda nga mulamu? Kale Mukama akuwe empeera ennungi olw'ekyo ky'onkoze leero. 09S1A024.020 And now, behold, I know well that thou shalt surely be king, and that the kingdom of Israel shall be established in thine hand. %%% Era nno, laba, mmanyi nga tolirema kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Isiraeri bulinywezebwa mu mukono gwo. 09S1A024.021 Swear now therefore unto me by the LORD, that thou wilt not cut off my seed after me, and that thou wilt not destroy my name out of my father's house. %%% Kale nno kaakano ndayirira Mukama nga tolizikiriza zzadde lyange eririddawo, so nga tolimalawo linnya lyange okuliggya mu nnyumba ya kitange. 09S1A024.022 And David sware unto Saul. And Saul went home; but David and his men gat them up unto the hold. %% Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo eka; naye Dawudi n'abasajja be ne bayambuka mu mpuku. 09S1A025.001 And Samuel died; and all the Israelites were gathered together, and lamented him, and buried him in his house at Ramah. And David arose, and went down to the wilderness of Paran. %%% Awo Samwiri n'afa; Isiraeri yenna ne bakuŋŋaana ne bamukaabira, ne bamuziika mu nnyumba ye e Laama. Dawudi n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu Palani. 09S1A025.002 And there was a man in Maon, whose possessions were in Carmel; and the man was very great, and he had three thousand sheep, and a thousand goats: and he was shearing his sheep in Carmel. %%% Awo yaliyo omusajja e Mawoni ebintu bye nga biri e Kalumeeri; era omusajja oyo yali mukulu nnyo, era yalina endiga enkumi ssatu n'embuzi lukumi: awo yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Kalumeeri. 09S1A025.003 Now the name of the man was Nabal; and the name of his wife Abigail: and she was a woman of good understanding, and of a beautiful countenance: but the man was churlish and evil in his doings; and he was of the house of Caleb. %%% Era erinnya ly'omusajja Nabali; ne mukazi we erinnya lye Abbigayiri: n'omukazi yali mutegeevu n'amaaso ge nga malungi: naye omusajja yali wa kkabyo era mubi mu bikolwa bye; era yali wa nnyumba ya Kalebu. 09S1A025.004 And David heard in the wilderness that Nabal did shear his sheep. %%% Awo Dawudi n'awulira mu ddungu Nabali ng'asala ebyoya by'endiga ze. 09S1A025.005 And David sent out ten young men, and David said unto the young men, Get you up to Carmel, and go to Nabal, and greet him in my name: %%% Awo Dawudi n'atuma abalenzi kkumi, Dawudi n'agamba abalenzi nti Mwambuke e Kalumeeri mugende eri Nabali mumunnamusize: 09S1A025.006 And thus shall ye say to him that liveth in prosperity, Peace be both to thee, and peace be to thine house, and peace be unto all that thou hast. %%% era bwe mutyo bwe muba mugamba oyo atuula ng'alaba (omukisa) nti Emirembe gibeere gy'oli, era emirembe gibeere ku nnyumba yo, era emirembe gibeere ku byonna by'olina. 09S1A025.007 And now I have heard that thou hast shearers: now thy shepherds which were with us, we hurt them not, neither was there ought missing unto them, all the while they were in Carmel. %%% Era nno mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga: abasumba bo nno baabanga naffe ne tutabakola bubi, so tewaabanga ekyababula, ebiro byonna nga bali e Kalumeeri. 09S1A025.008 Ask thy young men, and they will shew thee. Wherefore let the young men find favour in thine eyes: for we come in a good day: give, I pray thee, whatsoever cometh to thine hand unto thy servants, and to thy son David. %%% Buuza abalenzi bo, banaakubuulira: kale abalenzi baganje mu maaso go; kubanga tujjidde ku lunaku olulungi: waayo, nkwegayiridde, kyonna ekinajja mu mukono gwo eri abaddu bo n'eri mutabani wo Dawudi. 09S1A025.009 And when David's young men came, they spake to Nabal according to all those words in the name of David, and ceased. %%% Awo abalenzi ba Dawudi bwe bajja, ne boogera ne Nabali mu linnya lya Dawudi ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri, ne basirika. 09S1A025.010 And Nabal answered David's servants, and said, Who is David? and who is the son of Jesse? there be many servants now a days that break away every man from his master. %%% Awo Nabali n'addamu abaddu ba Dawudi n'ayogera nti Dawudi ye ani? ne mutabani wa Yese ye ani? mu biro bino wabaawo abaddu bangi abajeemera buli muntu mukama we. 09S1A025.011 Shall I then take my bread, and my water, and my flesh that I have killed for my shearers, and give it unto men, whom I know not whence they be? %%% Kale nno nnaatoola emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, ne mbiwa abasajja be ssimanyiiko gye bavudde? 09S1A025.012 So David's young men turned their way, and went again, and came and told him all those sayings. %%% Awo abalenzi ba Dawudi ne bakyuka ne bakwata ekkubo ne baddayo ne bajja ne bamubuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri. 09S1A025.013 And David said unto his men, Gird ye on every man his sword. And they girded on every man his sword; and David also girded on his sword: and there went up after David about four hundred men; and two hundred abode by the stuff. %%% Awo Dawudi n'agamba abasajja be nti Mwesibe buli muntu ekitala kye. Ne beesiba buli muntu ekitala kye; ne Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye: ne wayambuka okugoberera Dawudi abasajja nga bikumi bina; ebikumi ebibiri ne basigala ku bintu. 09S1A025.014 But one of the young men told Abigail, Nabal's wife, saying, Behold, David sent messengers out of the wilderness to salute our master; and he railed on them. %%% Naye omu ku balenzi n'abuulira Abbigayiri mukazi wa Nabali ng'ayogera nti Laba, Dawudi yatuma ababaka ng'ayima mu ddungu okulamusa mukama waffe; n'abagwako. 09S1A025.015 But the men were very good unto us, and we were not hurt, neither missed we any thing, as long as we were conversant with them, when we were in the fields: %%% Naye abasajja abo baatukolanga bulungi nnyo, so tetukolwanga bubi, so tetubulwanga kintu kyonna ebbanga lyonna lye twamala nga tubeera nabo, bwe twali mu nsiko: 09S1A025.016 They were a wall unto us both by night and day, all the while we were with them keeping the sheep. %%% baabanga bbugwe gye tuli emisana n'ekiro ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga. 09S1A025.017 Now therefore know and consider what thou wilt do; for evil is determined against our master, and against all his household: for he is such a son of Belial, that a man cannot speak to him. %%% Kale nno kaakano tegeera olowooze ky'onookola: kubanga bamaliridde obubi ku mukama waffe ne ku nnyumba ye yonna: kubanga omwana wa Beriali eyenkanidde awo n'okuyinza omuntu n'atayinza kwogera naye. 09S1A025.018 Then Abigail made haste, and took two hundred loaves, and two bottles of wine, and five sheep ready dressed, and five measures of parched corn, and an hundred clusters of raisins, and two hundred cakes of figs, and laid them on asses. %%% Awo Abbigayiri n'alyoka ayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri n'ebita bibiri eby'omwenge n'endiga ttaano enfumbire ddala, n'ebigero bitaano eby'eŋŋaano ensiike, n'ebirimba kikumi eby'ezabbibu enkalu, n'ebitole ebikumi bibiri eby'ettiini, n'abitikka endogoyi. 09S1A025.019 And she said unto her servants, Go on before me; behold, I come after you. But she told not her husband Nabal. %%% N'agamba abalenzi be nti Munkulembere mugende; laba mbavaako nnyuma. Naye n'atabuulira bba Nabali. 09S1A025.020 And it was so, as she rode on the ass, that she came down by the covert of the hill, and, behold, David and his men came down against her; and she met them. %%% Awo olwatuuka nga yeebagala endogoyi ye n'aserengeta awaali ekifo ekyekwekerwamu eky'oku lusozi, awo, laba, Dawudi n'abasajja be ne baserengeta okumwolekera; n'asisinkana nabo. 09S1A025.021 Now David had said, Surely in vain have I kept all that this fellow hath in the wilderness, so that nothing was missed of all that pertained unto him: and he hath requited me evil for good. %%% Era Dawudi yali ayogedde nti Mazima nkuumidde bwereere byonna olusajja luno bye lulina mu ddungu, ekintu kyonna ne kitabula ku byalwo byonna bwe byenkana: kale lunsasudde obubi olw'obulungi. 09S1A025.022 So and more also do God unto the enemies of David, if I leave of all that pertain to him by the morning light any that pisseth against the wall. %%% Katonda akole bw'atyo abalabe ba Dawudi n'okukirawo, bwe ndisigazaawo ku babe bonna bwe benkana n'omwana omu ow'obulenzi. 09S1A025.023 And when Abigail saw David, she hasted, and lighted off the ass, and fell before David on her face, and bowed herself to the ground, %%% Awo Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi ye n’avuunamira Dawudi amaaso ge, n'akutama ku ttaka. 09S1A025.024 And fell at his feet, and said, Upon me, my lord, upon me let this iniquity be: and let thine handmaid, I pray thee, speak in thine audience, and hear the words of thine handmaid. %%% N'agwa ku bigere bye n'ayogera nti Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze mukama wange, ku nze: era muzaana wo ayogere mu matu go, nkwegayiridde, era wulira ebigambo by'omuzaana wo. 09S1A025.025 Let not my lord, I pray thee, regard this man of Belial, even Nabal: for as his name is, so is he; Nabal is his name, and folly is with him: but I thine handmaid saw not the young men of my lord, whom thou didst send. %%% Nkwegayiridde, mukama wange aleme okussaayo omwoyo eri omuntu oyo owa Beriali, Nabali: kuba erinnya lye nga bwe liri, naye bw'ali bw'atyo; Nabali lye linnya lye n'obusirusiru buli naye; naye nze omuzaana wo saalaba balenzi ba mukama wange be watuma. 09S1A025.026 Now therefore, my lord, as the LORD liveth, and as thy soul liveth, seeing the LORD hath withholden thee from coming to shed blood, and from avenging thyself with thine own hand, now let thine enemies, and they that seek evil to my lord, be as Nabal. %%% Kale nno kaakano, mukama wange nga Mukama bw'ali omulamu naawe nga bw'oli omulamu, kubanga Mukama akuziyizza okuzza omusango gw'omusaayi n'okwewalanira eggwanga n'omukono gwo ggwe, kale nno abalabe bo n’abo abanoonyeza mukama wange akabi, babe nga Nabali. 09S1A025.027 And now this blessing which thine handmaid hath brought unto my lord, let it even be given unto the young men that follow my lord. %%% Era nno ekirabo kino omuzaana wo ky'aleetedde mukama wange, kiweebwe abalenzi abagoberera mukama wange. 09S1A025.028 I pray thee, forgive the trespass of thine handmaid: for the LORD will certainly make my lord a sure house; because my lord fighteth the battles of the LORD, and evil hath not been found in thee all thy days. %%% Nkwegayidde, sonyiwa ekyonoono ky’omuzaana wo: kubanga Mukama talirema kukolera mukama nnyumba ey'enkalakkalira kubanga Mukama wange alwana entalo za Mukama; so n'akabi tekalirabika ku ggwe ennaku zo zonna. 09S1A025.029 Yet a man is risen to pursue thee, and to seek thy soul: but the soul of my lord shall be bound in the bundle of life with the LORD thy God; and the souls of thine enemies, them shall he sling out, as out of the middle of a sling. %%% Era newakubadde ng'abantu bagolokose okukuyigganya n'okunoonya obulamu bwo, naye obulamu bwa mukama wange bulisibirwa mu muganda gw'obulanu wamu ne Mukama Katonda wo; n'obulamu bw'abalabe bo alibuvuumuula ng'ebiva mu lubuto lw'envuumuulo. 09S1A025.030 And it shall come to pass, when the LORD shall have done to my lord according to all the good that he hath spoken concerning thee, and shall have appointed thee ruler over Israel; %%% Awo olulituuka Mukama bw'aliba ng'akoze mukama wange ng'obulungi bwonna bwe buli bwe yakwogerako era ng'akutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri: 09S1A025.031 That this shall be no grief unto thee, nor offence of heart unto my lord, either that thou hast shed blood causeless, or that my lord hath avenged himself: but when the LORD shall have dealt well with my lord, then remember thine handmaid. %%% kale kino tekirikulumya mwoyo, so omutima gwange tegulyesittaza mukama wange kubanga wayiwa omusaayi ogutaliiko nsonga newakubadde kino nga mukama wange yeewalanira eggwanga yekka: awo Mukama bw'aliba ng'akoze bulungi mukama wange, kale ojjukiranga omuzaana wo. 09S1A025.032 And David said to Abigail, Blessed be the LORD God of Israel, which sent thee this day to meet me: %%% Dawudi n'agamba Abbigayiri nti Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange: 09S1A025.033 And blessed be thy advice, and blessed be thou, which hast kept me this day from coming to shed blood, and from avenging myself with mine own hand. %%% era gatenderezebwe n'amagezi go, naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musango gwa musaayi n'obuteewalanira ggwanga n'omukono gwange nze. 09S1A025.034 For in very deed, as the LORD God of Israel liveth, which hath kept me back from hurting thee, except thou hadst hasted and come to meet me, surely there had not been left unto Nabal by the morning light any that pisseth against the wall. %%% Kubanga mazima ddala, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bw'ali omulamu, anziyizza okukola obubi, singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange, mazima tewandisigalidde Nabali emmambya ng'esaze omwana omu ow'obulenzi. 09S1A025.035 So David received of her hand that which she had brought him, and said unto her, Go up in peace to thine house; see, I have hearkened to thy voice, and have accepted thy person. %%% Awo Dawudi n'atoola mu ngalo ze ebyo by'amuleetedde: n'amugamba nti Yambuka mu nnyumba yo mirembe; laba, mpulidde eddoboozi lyo ne nkukkiriza ggwe. 09S1A025.036 And Abigail came to Nabal; and, behold, he held a feast in his house, like the feast of a king; and Nabal's heart was merry within him, for he was very drunken: wherefore she told him nothing, less or more, until the morning light. %%% Awo Abbigayiri n'ajja eri Nabali; era, laba, yali afumbye embaga mu nnyumba ye, ng'embaga ya kabaka; n'omwoyo gwa Nabali gwali gusanyuse munda mu ye, kubanga yali atamidde nnyo: kyeyava alema okumubuulira ekigambo kyonna, oba kitono oba kikulu, okutuusa enkya. 09S1A025.037 But it came to pass in the morning, when the wine was gone out of Nabal, and his wife had told him these things, that his heart died within him, and he became as a stone. %%% Awo olwatuuka enkya, Nabali omwenge bwe gwali gumuvuddeko, mukazi we n'amubuulira ebigambo ebyo, omutima gwe ne gufiira munda ye n'afuuka ng'ejjinja. 09S1A025.038 And it came to pass about ten days after, that the LORD smote Nabal, that he died. %%% Awo olwatuuka ennaku nga kkumi nga ziyiseewo, Mukama n'alwaza Nabali n'afa. 09S1A025.039 And when David heard that Nabal was dead, he said, Blessed be the LORD, that hath pleaded the cause of my reproach from the hand of Nabal, and hath kept his servant from evil: for the LORD hath returned the wickedness of Nabal upon his own head. And David sent and communed with Abigail, to take her to him to wife. %%% Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng'afudde, n'ayogera nti Mukama atenderezebwe, awozezza ensonga ey'okuvumibwa kwange mu mukono gwa Nabali era aziyizza omuddu we okukola ekibi: n'obubi bwa Nabali Mukama abuzzizzaayo ku mutwe gwe ye. Dawudi n'atuma n'ayogereza Abbigayiri okumufumbirwa. 09S1A025.040 And when the servants of David were come to Abigail to Carmel, they spake unto her, saying, David sent us unto thee, to take thee to him to wife. %%% Awo abaddu ba Dawudi bwe baatuuka eri Abbigayiri e Kalumeeri, ne bamugamba nti Dawudi yatutumye gy'oli okukufumbirwa. 09S1A025.041 And she arose, and bowed herself on her face to the earth, and said, Behold, let thine handmaid be a servant to wash the feet of the servants of my lord. %%% Awo n'agolokoka n'avuunama amaaso ge n'ayogera nti Laba, omuzaana wo abe muweereza okunaazanga ebigere by'abaddu ba mukama wange. 09S1A025.042 And Abigail hasted, and arose, and rode upon an ass, with five damsels of hers that went after her; and she went after the messengers of David, and became his wife. %%% Awo Abbigayiri n'ayanguwa n'agolokoka ne yeebagala endogoyi wamu ne bawala be bataano abaamugobereranga; n'agoberera ababaka ba Dawudi, n'aba mukazi we. 09S1A025.043 David also took Ahinoam of Jezreel; and they were also both of them his wives. %%% Dawudi n'awasa ne Akinoamu ow'e Yezuleeri; bombi ne baba bakazi be. 09S1A025.044 But Saul had given Michal his daughter, David's wife, to Phalti the son of Laish, which was of Gallim. %%% Era Sawulo yali awadde Mikali muwala we, mukazi wa Dawudi, Paluti mutabani wa Layisi ow'e Galimu. 09S1A026.001 And the Ziphites came unto Saul to Gibeah, saying, Doth not David hide himself in the hill of Hachilah, which is before Jeshimon? %%% Awo ab'e Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera nti Dawudi teyeekweka ku lusozi Kakira olwolekera eddungu? 09S1A026.002 Then Saul arose, and went down to the wilderness of Ziph, having three thousand chosen men of Israel with him, to seek David in the wilderness of Ziph. %%% Awo Sawulo n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde aba Isiraeri enkumi ssatu wamu naye, okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu. 09S1A026.003 And Saul pitched in the hill of Hachilah, which is before Jeshimon, by the way. But David abode in the wilderness, and he saw that Saul came after him into the wilderness. %%% Sawulo n'asiisira ku lusozi Kakira, olwolekera eddungu, mu kkubo. Naye Dawudi n'abeera mu ddungu n'alaba nga Sawulo atuuse mu ddungu ng'amugoberera. 09S1A026.004 David therefore sent out spies, and understood that Saul was come in very deed. %%% Dawudi kyeyava atuma abakessi n'ategeera nga Sawulo atuukidde ddala: 09S1A026.005 And David arose, and came to the place where Saul had pitched: and David beheld the place where Saul lay, and Abner the son of Ner, the captain of his host: and Saul lay in the trench, and the people pitched round about him. %%% Dawudi n'agolokoka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde: Dawudi n'alaba ekifo Sawulo we yagalamira, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lye: era Sawulo yali agalamidde munda w'ekifo eky'amagaali, abantu ne basiisira okumwetooloola. 09S1A026.006 Then answered David and said to Ahimelech the Hittite, and to Abishai the son of Zeruiah, brother to Joab, saying, Who will go down with me to Saul to the camp? And Abishai said, I will go down with thee. %%% Awo Dawudi n'addamu n'agamba Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, ng'ayogera nti Ani anaaserengeta nange n'agenda eri Sawulo mu lusiisira? Abisaayi n'ayogera nti Nze naaserengeta naawe. 09S1A026.007 So David and Abishai came to the people by night: and, behold, Saul lay sleeping within the trench, and his spear stuck in the ground at his bolster: but Abner and the people lay round about him. %%% Awo Dawudi ne Abisaayi ne bajja eri abantu ekiro: awo, laba, Sawulo ng'agalamidde nga yeebase munda w'ekifo eky'amagaali, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka ku mutwe gwe: ne Abuneeri n'abantu nga bagalamidde okumwetooloola. 09S1A026.008 Then said Abishai to David, God hath delivered thine enemy into thine hand this day: now therefore let me smite him, I pray thee, with the spear even to the earth at once, and I will not smite him the second time. %%% Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero: kale nno, nkwegayiridde, mmufumite n'effumu okukwasa n'ettaka omulundi gumu so siimufumite gwa kubiri. 09S1A026.009 And David said to Abishai, Destroy him not: for who can stretch forth his hand against the LORD's anointed, and be guiltless? %%% Dawudi n'agamba Abisaayi nti Tomuzikiriza: kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n'aba nga taliiko musango? 09S1A026.010 David said furthermore, As the LORD liveth, the LORD shall smite him; or his day shall come to die; or he shall descend into battle, and perish. %%% Dawudi n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu Mukama ye alimutta oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n'azikirira. 09S1A026.011 The LORD forbid that I should stretch forth mine hand against the LORD's anointed: but, I pray thee, take thou now the spear that is at his bolster, and the cruse of water, and let us go. %%% Mukama akiddize eri nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta: naye nno twala, nkwegayiridde, effumu eriri ku mutwe gwe n'ensumbi y'amazzi tugende. 09S1A026.012 So David took the spear and the cruse of water from Saul's bolster; and they gat them away, and no man saw it, nor knew it, neither awaked: for they were all asleep; because a deep sleep from the LORD was fallen upon them. %%% Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya ku mutwe gwa Sawulo; ne beddirayo so nga tewali muntu akirabye newakubadde akimanyi, so nga tewali azuukuse: kubanga bonna nga beebase; kubanga otulo tungi otwava eri Mukama twali tubaguddeko. 09S1A026.013 Then David went over to the other side, and stood on the top of an hill afar off; a great space being between them: %%% Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi; nga yeesuddeko nabo ebbanga ddene: 09S1A026.014 And David cried to the people, and to Abner the son of Ner, saying, Answerest thou not, Abner? Then Abner answered and said, Who art thou that criest to the king? %%% Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'ayogera nti Toddamu, Abuneeri? Awo Abuneeri n'addamu n’ayogera nti Ggwe ani akoowoola kabaka? 09S1A026.015 And David said to Abner, Art not thou a valiant man? and who is like to thee in Israel? wherefore then hast thou not kept thy lord the king? for there came one of the people in to destroy the king thy lord. %%% Dawudi n'agamba Abuneeri nti Toli muzira? era ani akwenkana mu Isiraeri? kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? kubanga muyingidde omu ku bantu okuzikiriza kabaka mukama wo. 09S1A026.016 This thing is not good that thou hast done. As the LORD liveth, ye are worthy to die, because ye have not kept your master, the LORD's anointed. And now see where the king's spear is, and the cruse of water that was at his bolster. %%% Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe. 09S1A026.017 And Saul knew David's voice, and said, Is this thy voice, my son David? And David said, It is my voice, my lord, O king. %%% Sawulo n'amanya eddoboozi lya Dawudi n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Dawudi n'ayogera nti Lye ddoboozi lyange, mukama wange, ai kabaka. 09S1A026.018 And he said, Wherefore doth my lord thus pursue after his servant? for what have I done? or what evil is in mine hand? %%% N'ayogera nti Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? kubanga nkoze ki? oba kibi ki ekiri mu mukono gwange? 09S1A026.019 Now therefore, I pray thee, let my lord the king hear the words of his servant. If the LORD have stirred thee up against me, let him accept an offering: but if they be the children of men, cursed be they before the LORD; for they have driven me out this day from abiding in the inheritance of the LORD, saying, Go, serve other gods. %%% Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama oba nga ye yakumpeerera, akkirize ekiweebwayo: naye oba nga be baana b'abantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga bangobye leero nneme okwegatta n'obusika bwa Mukama nga boogera nti Genda oweereze bakatonda abalala. 09S1A026.020 Now therefore, let not my blood fall to the earth before the face of the LORD: for the king of Israel is come out to seek a flea, as when one doth hunt a partridge in the mountains. %%% Kale nno omusaayi gwange guleme okutonnya wansi Mukama gy'atabeera: kubanga kabaka wa Isiraeri atabadde oknnoonya enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi: 09S1A026.021 Then said Saul, I have sinned: return, my son David: for I will no more do thee harm, because my soul was precious in thine eyes this day: behold, I have played the fool, and have erred exceedingly. %%% Awo Sawulo n'ayogera nti Nnyonoonye: komawo, mwana wange Dawudi: kubanga siryeyongera kukukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nasiruwala ne nkyama nnyo nnyini. 09S1A026.022 And David answered and said, Behold the king's spear! and let one of the young men come over and fetch it. %%% Dawudi n'addamu n'ayogera nti Laba effumu, ai kabaka! kale omu ku balenzi ajje aliddukire. 09S1A026.023 The LORD render to every man his righteousness and his faithfulness; for the LORD delivered thee into my hand to day, but I would not stretch forth mine hand against the LORD's anointed. %%% Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe: kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 09S1A026.024 And, behold, as thy life was much set by this day in mine eyes, so let my life be much set by in the eyes of the LORD, and let him deliver me out of all tribulation. %%% Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, obulamu bwange bubeere bwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama, andokole mu kulaba ennaku kwonna. 09S1A026.025 Then Saul said to David, Blessed be thou, my son David: thou shalt both do great things, and also shalt still prevail. So David went on his way, and Saul returned to his place. %%% Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Oweebwe omukisa, mwana wange Dawudi: olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula. Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo mu kifo kye. 09S1A027.001 And David said in his heart, I shall now perish one day by the hand of Saul: there is nothing better for me than that I should speedily escape into the land of the Philistines; and Saul shall despair of me, to seek me any more in any coast of Israel: so shall I escape out of his hand. %%% Awo Dawudi n'ayogera mu mwoyo gwe nti Luliba lunaku lumu ne nzikirira olw'omukono gwa Sawulo: tewali kisinga bulungi gye ndi okudduka ne ntuuka mu nsi ey'Abafirisuuti; kale Sawulo aliggyayo omwoyo gye ndi, okunnoonya nate mu nsalo zonna eza Isiraeri: bwe ndiwona bwe ntyo mu mukono gwe. 09S1A027.002 And David arose, and he passed over with the six hundred men that were with him unto Achish, the son of Maoch, king of Gath. %%% Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne basenga Akisi mutabani wa Mawoki, kabaka w'e Gaasi. 09S1A027.003 And David dwelt with Achish at Gath, he and his men, every man with his household, even David with his two wives, Ahinoam the Jezreelitess, and Abigail the Carmelitess, Nabal's wife. %%% Dawudi n'atuula ne Akisi e Gaasi, ye n'abasajja be, buli muntu n'ab'omu nnyumba, Dawudi ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, mukazi wa Nabali 09S1A027.004 And it was told Saul that David was fled to Gath: and he sought no more again for him. %%% Ne babuulira Sawulo nga Dawudi yaddukira e Gaasi: n'atamunoonya nate. 09S1A027.005 And David said unto Achish, If I have now found grace in thine eyes, let them give me a place in some town in the country, that I may dwell there: for why should thy servant dwell in the royal city with thee? %%% Awo Dawudi n'agamba Akisi nti Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo: kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga kyennyini awamu naawe? 09S1A027.006 Then Achish gave him Ziklag that day: wherefore Ziklag pertaineth unto the kings of Judah unto this day. %%% Awo Akisi n'amuwa Zikulagi ku lunaku olwo: Zikulagi kyekivudde kibeera ekya bakabaka ba Yuda na buli kati. 09S1A027.007 And the time that David dwelt in the country of the Philistines was a full year and four months. %%% Awo omuwendo gw'ennaku Dawudi ze yamala mu nsi ey'Abafirisuuti gwali mwaka mulamba ko emyezi ena. 09S1A027.008 And David and his men went up, and invaded the Geshurites, and the Gezrites, and the Amalekites: for those nations were of old the inhabitants of the land, as thou goest to Shur, even unto the land of Egypt. %%% Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki: kubanga abo be baatuulanga mu nsi, abaabangamu edda, ng'ogenda e Ssuuli, okugenda mu nsi ey'e Misiri. 09S1A027.009 And David smote the land, and left neither man nor woman alive, and took away the sheep, and the oxen, and the asses, and the camels, and the apparel, and returned, and came to Achish. %%% Dawudi n'atta ensi n'atawonya musajja newakubadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamira n'ebyambalo; n'akomawo n'ajja eri Akisi. 09S1A027.010 And Achish said, Whither have ye made a road to day? And David said, Against the south of Judah, and against the south of the Jerahmeelites, and against the south of the Kenites. %%% Awo Akisi n'ayogera nti Muva wa okukwekweta leero? Dawudi n'ayogera nti Ebukiika obwa ddyo obwa Yuda n'obukiika obwa ddyo obw'Abayerameeri n'obukiika obwa ddyo obw'Abakeeni. 09S1A027.011 And David saved neither man nor woman alive, to bring tidings to Gath, saying, Lest they should tell on us, saying, So did David, and so will be his manner all the while he dwelleth in the country of the Philistines. %%% Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, ng'ayogera nti Baleme okutuloopa nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bwe yakola, era bwe yayisanga bw'atyo kasookedde atuula mu nsi ey'Abafirisuuti. 09S1A027.012 And Achish believed David, saying, He hath made his people Israel utterly to abhor him; therefore he shall be my servant for ever. %%% Awo Akisi n'akkiriza Dawudi n'ayogera nti Abantu be Isiraeri abatamiriddwa ddala; kyaliva abeera omuddu wange ennaku zonna. 09S1A028.001 And it came to pass in those days, that the Philistines gathered their armies together for warfare, to fight with Israel. And Achish said unto David, Know thou assuredly, that thou shalt go out with me to battle, thou and thy men. %%% Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe entalo okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti Tegeerera ddala ng'olitabaala nange mu ggye, ggwe n'abasajja bo. 09S1A028.002 And David said to Achish, Surely thou shalt know what thy servant can do. And Achish said to David, Therefore will I make thee keeper of mine head for ever. %%% Dawudi n'agamba Akisi nti Kyoliva otegeera omuddu wo by'alikola. Akisi n'agamba Dawudi nti Kyendiva nkufuula omukuumi w'omutwe gwange ennaku zonna. 09S1A028.003 Now Samuel was dead, and all Israel had lamented him, and buried him in Ramah, even in his own city. And Saul had put away those that had familiar spirits, and the wizards, out of the land. %%% Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali aggye mu nsi abo abaaliko emizimu n'abafumu. 09S1A028.004 And the Philistines gathered themselves together, and came and pitched in Shunem: and Saul gathered all Israel together, and they pitched in Gilboa. %%% Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana ne bajja ne basiisira e Sunemu: awo Sawulo n'akuŋŋaanya Isiraeri yonna ne basiisira ku Girubowa. 09S1A028.005 And when Saul saw the host of the Philistines, he was afraid, and his heart greatly trembled. %%% Awo Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafirisuuti, n'atya, omwoyo gwe ne gukankana nnyo: 09S1A028.006 And when Saul enquired of the LORD, the LORD answered him not, neither by dreams, nor by Urim, nor by prophets. %%% Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi. 09S1A028.007 Then said Saul unto his servants, Seek me a woman that hath a familiar spirit, that I may go to her, and enquire of her. And his servants said to him, Behold, there is a woman that hath a familiar spirit at Endor. %%% Awo Sawulo n'alyoka agamba abaddu be nti Munnoonyeze omukazi aliko omuzimu ŋŋende gy'ali mubuuze. Abaddu be ne bamugamba nti Laba, waliwo omukazi aliko omuzimu e Endoli. 09S1A028.008 And Saul disguised himself, and put on other raiment, and he went, and two men with him, and they came to the woman by night: and he said, I pray thee, divine unto me by the familiar spirit, and bring me him up, whom I shall name unto thee. %%% Sawulo ne yeekyusa n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda, ye n'abasajja babiri naye, be bajja eri omukazi ekiro: n'ayogera nti Ndagula, nkwegayiridde, n'omuzimu, onninnyisize buli gwe nnaakugambako erinnya. 09S1A028.009 And the woman said unto him, Behold, thou knowest what Saul hath done, how he hath cut off those that have familiar spirits, and the wizards, out of the land: wherefore then layest thou a snare for my life, to cause me to die? %%% Awo omukazi n'amugamba nti Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu, n'abafumu: kale kiki ekikuteeza obulamu bwange ekyambika okunzisa. 09S1A028.010 And Saul sware to her by the LORD, saying, As the LORD liveth, there shall no punishment happen to thee for this thing. %%% Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, tekulikubaako kibonerezo kyonna olw'ekigambo kino. 09S1A028.011 Then said the woman, Whom shall I bring up unto thee? And he said, Bring me up Samuel. %%% Awo omukazi n'ayogera nti Ani gwe mba nkulinnyisiza? N'ayogera nti Nninnyisiza Samwiri. 09S1A028.012 And when the woman saw Samuel, she cried with a loud voice: and the woman spake to Saul, saying, Why hast thou deceived me? for thou art Saul. %%% Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene: omukazi n'agamba Sawulo nti Onnimbidde ki? Kubanga ggwe oli Sawulo. 09S1A028.013 And the king said unto her, Be not afraid: for what sawest thou? And the woman said unto Saul, I saw gods ascending out of the earth. %%% Kabaka n'amugamba nti Totya: kubanga olaba ki? Omukazi n'agamba Sawulo nti Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka. 09S1A028.014 And he said unto her, What form is he of? And she said, An old man cometh up; and he is covered with a mantle. And Saul perceived that it was Samuel, and he stooped with his face to the ground, and bowed himself. %%% N'amugamba nti Embala ye eri etya? N'ayogera nti Omukadde ayambuka; era yeenagiddeko omunagiro. Sawulo n'ategeera nga Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. 09S1A028.015 And Samuel said to Saul, Why hast thou disquieted me, to bring me up? And Saul answered, I am sore distressed; for the Philistines make war against me, and God is departed from me, and answereth me no more, neither by prophets, nor by dreams: therefore I have called thee, that thou mayest make known unto me what I shall do. %%% Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Lwaki okungolokosa okunninnyisa? Sawulo n'addamu nti Neeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto: kyenvudde nkuyita ontegeeze bye mba nkola. 09S1A028.016 Then said Samuel, Wherefore then dost thou ask of me, seeing the LORD is departed from thee, and is become thine enemy? %%% Awo Samwiri n'ayogera nti Obuuliza ki nze nno, Mukama ng'akuvuddeko era ng'afuuse mulabe wo? 09S1A028.017 And the LORD hath done to him, as he spake by me: for the LORD hath rent the kingdom out of thine hand, and given it to thy neighbour, even to David: %%% Era Mukama yeekoledde omulimu, nga bwe yayogerera mu nze: era Mukama ayuzizza obwakabaka ng'abuggya mu mukono gwo era abuwadde muliraanwa wo, Dawudi. 09S1A028.018 Because thou obeyedst not the voice of the LORD, nor executedst his fierce wrath upon Amalek, therefore hath the LORD done this thing unto thee this day. %%% Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kino leero. 09S1A028.019 Moreover the LORD will also deliver Israel with thee into the hand of the Philistines: and to morrow shalt thou and thy sons be with me: the LORD also shall deliver the host of Israel into the hand of the Philistines. %%% Era nate Mukama anaagabula ne Isiraeri wamu naawe mu mukobo gw'Abafirisuuti: era enkya ggwe ne batabani bo banaaba nange: Mukama anaagabula n'eggye lya Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti. 09S1A028.020 Then Saul fell straightway all along on the earth, and was sore afraid, because of the words of Samuel: and there was no strength in him; for he had eaten no bread all the day, nor all the night. %%% Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri: ne mutamusigalamu maanyi; kubanga yali talidde ku mmere yonna okuzibya obudde n'okukeesa. 09S1A028.021 And the woman came unto Saul, and saw that he was sore troubled, and said unto him, Behold, thine handmaid hath obeyed thy voice, and I have put my life in my hand, and have hearkened unto thy words which thou spakest unto me. %%% Omukazi n'ajja eri Sawulo, n'alaba nga yeeraliikiridde nnyo, n'amugamba nti Laba, omuzaana wo awulidde eddoboozi lyo ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange ne mpulira ebigambo byo by'oŋŋambye. 09S1A028.022 Now therefore, I pray thee, hearken thou also unto the voice of thine handmaid, and let me set a morsel of bread before thee; and eat, that thou mayest have strength, when thou goest on thy way. %%% Kale nno, nkwegayiridde, naawe wulira eddoboozi ly'omuzaana wo, era nteeke akamere mu maaso go; olye olyoke obe n'amaanyi bw'onoogenda. 09S1A028.023 But he refused, and said, I will not eat. But his servants, together with the woman, compelled him; and he hearkened unto their voice. So he arose from the earth, and sat upon the bed. %%% Naye n'agaana n'ayogera nti Siirye. Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda. 09S1A028.024 And the woman had a fat calf in the house; and she hasted, and killed it, and took flour, and kneaded it, and did bake unleavened bread thereof: %%% Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa: 09S1A028.025 And she brought it before Saul, and before his servants; and they did eat. Then they rose up, and went away that night. %%% n'aguleeta mu maaso ga Sawulo ne mu maaso g'abaddu be; ne balya. Awo ne bagolokoka ne bagenda ekiro ekyo. 09S1A029.001 Now the Philistines gathered together all their armies to Aphek: and the Israelites pitched by a fountain which is in Jezreel. %%% Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki: Abaisiraeri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri. 09S1A029.002 And the lords of the Philistines passed on by hundreds, and by thousands: but David and his men passed on in the rereward with Achish. %%% Awo abaami b'Abafirisuuti ne bayitawo ebikumi n'ebikumi n'enkumi n'enkumi: Dawudi n'abasajja be ne bayitira wamu ne Akisi nga basemba. 09S1A029.003 Then said the princes of the Philistines, What do these Hebrews here? And Achish said unto the princes of the Philistines, Is not this David, the servant of Saul the king of Israel, which hath been with me these days, or these years, and I have found no fault in him since he fell unto me unto this day? %%% Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti Abaebbulaniya bakola ki wano Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti Ono si Dawudi, omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, eyaakamala nange ennaku zino oba emyaka gino, so sirabanga kabi ku ye kasookedde asenga okutuusa leero? 09S1A029.004 And the princes of the Philistines were wroth with him; and the princes of the Philistines said unto him, Make this fellow return, that he may go again to his place which thou hast appointed him, and let him not go down with us to battle, lest in the battle he be an adversary to us: for wherewith should he reconcile himself unto his master? should it not be with the heads of these men? %%% Naye abakulu b'Abafirisuuti ne bamusunguwalira; abakulu b'Abafirisuuti ne bamugamba nti Muzzeeyo omusajja oyo addeyo mu kifo kye kye wamulagira, aleme okuserengetera awamu naffe mu lutalo, aleme okufuuka omulabe waffe mu lutalo kubanga olusajja luno lwandyetabaganyizza naki ne mukama we? si na mitwe gya basajja bano? 09S1A029.005 Is not this David, of whom they sang one to another in dances, saying, Saul slew his thousands, and David his ten thousands? %%% Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe? 09S1A029.006 Then Achish called David, and said unto him, Surely, as the LORD liveth, thou hast been upright, and thy going out and thy coming in with me in the host is good in my sight: for I have not found evil in thee since the day of thy coming unto me unto this day: nevertheless the lords favour thee not. %%% Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange: kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero: naye abaami tebakwagala. 09S1A029.007 Wherefore now return, and go in peace, that thou displease not the lords of the Philistines. %%% Kale nno ddayo ogende mirembe oleme okunyiiza abaami b'Abafirisuuti. 09S1A029.008 And David said unto Achish, But what have I done? and what hast thou found in thy servant so long as I have been with thee unto this day, that I may not go fight against the enemies of my lord the king? %%% Dawudi n'agamba Akisi nti Naye nkoze ki oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka? 09S1A029.009 And Achish answered and said to David, I know that thou art good in my sight, as an angel of God: notwithstanding the princes of the Philistines have said, He shall not go up with us to the battle. %%% Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda: naye abaami b'Abafirisuuti boogedde nti Tajja kwambuka naffe mu lutalo: 09S1A029.010 Wherefore now rise up early in the morning with thy master's servants that are come with thee: and as soon as ye be up early in the morning, and have light, depart. %%% Kale nno golokoka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe: awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende. 09S1A029.011 So David and his men rose up early to depart in the morning, to return into the land of the Philistines. And the Philistines went up to Jezreel. %%% Awo Dawudi n'agolokoka mu makya, ye n'abasajja be, okugenda enkya, okuddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bambuka e Yezuleeri. 09S1A030.001 And it came to pass, when David and his men were come to Ziklag on the third day, that the Amalekites had invaded the south, and Ziklag, and smitten Ziklag, and burned it with fire; %%% Awo olwatuuka, Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi ku lunaku olw'okusatu, Abamaleki baali bamaze okukwekweta obukiika obwa ddyo ne Zikulagi, era nga bamaze okutta Zikulagi era nga bakyokezza omuliro; 09S1A030.002 And had taken the women captives, that were therein: they slew not any, either great or small, but carried them away, and went on their way. %%% era nga banyaze abakazi ne bonna abaali omwo, abato era n'abakulu: tebatta n'omu, naye baabanyaga ne babatwala ne bagenda. 09S1A030.003 So David and his men came to the city, and, behold, it was burned with fire; and their wives, and their sons, and their daughters, were taken captives. %%% Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba, nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze. 09S1A030.004 Then David and the people that were with him lifted up their voice and wept, until they had no more power to weep. %%% Awo Dawudi n'abantu abaali naye ne balyoka bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba, 09S1A030.005 And David's two wives were taken captives, Ahinoam the Jezreelitess, and Abigail the wife of Nabal the Carmelite. %%% Ne bakazi ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri, baali babanyaze: 09S1A030.006 And David was greatly distressed; for the people spake of stoning him, because the soul of all the people was grieved, every man for his sons and for his daughters: but David encouraged himself in the LORD his God. %%% Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be: naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we. 09S1A030.007 And David said to Abiathar the priest, Ahimelech's son, I pray thee, bring me hither the ephod. And Abiathar brought thither the ephod to David. %%% Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti Nkwegayiridde, leeta eno ekkanzu. Abiyasaali n'aleetayo ekkanzu eri Dawudi. 09S1A030.008 And David enquired at the LORD, saying, Shall I pursue after this troop? shall I overtake them? And he answered him, Pursue: for thou shalt surely overtake them, and without fail recover all. %%% Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibantukako? N'amuddamu nti Goberera: kubanga tolirema kubatunkako, era tolirema kubibasuuza byonna. 09S1A030.009 So David went, he and the six hundred men that were with him, and came to the brook Besor, where those that were left behind stayed. %%% Awo Dawudi n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne bajja ku kagga Besoli abaasigala gye baatuula. 09S1A030.010 But David pursued, he and four hundred men: for two hundred abode behind, which were so faint that they could not go over the brook Besor. %%% Naye Dawudi n’agoberera, ye n’abasajja ebikumi bina: kubanga ebikumi bibiri baasigala, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayiaza kusomoka kagga Besoli: 09S1A030.011 And they found an Egyptian in the field, and brought him to David, and gave him bread, and he did eat; and they made him drink water; %%% ne basanga Omumisiri mu nsiko ne bamuleetera Dawudi ne bamuwa omugaati n'alya; ne bamunywesa amazzi: 09S1A030.012 And they gave him a piece of a cake of figs, and two clusters of raisins: and when he had eaten, his spirit came again to him: for he had eaten no bread, nor drunk any water, three days and three nights. %%% ne bamuwa ekitundu ky'ekitole eky'ettiini n'ebirimba bibiri eby'ezabbibu enkalu; awo bwe yalya omwoyo gwe ne gukomawo: kubanga yali ng'amaze ennaku ssatu emisana n'ekiro nga talya mugaati so nga tanywa n’amazzi. 09S1A030.013 And David said unto him, To whom belongest thou? and whence art thou? And he said, I am a young man of Egypt, servant to an Amalekite; and my master left me, because three days agone I fell sick. %%% Awo Dawudi n'amugamba nti Ggwe oli musajja w'ani? era ova wa? N'ayogera nti Nze ndi mulenzi w'e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula kubanga ennaku ziri ssatu kasookedde ndwala. 09S1A030.014 We made an invasion upon the south of the Cherethites, and upon the coast which belongeth to Judah, and upon the south of Caleb; and we burned Ziklag with fire. %%% Twakwekweta obukiika obwa ddyo obw'Abakeresi n'ensi ya Yuda n'obukiika obwa ddyo obwa Kalebu; ne twokya Zikulagi omuliro. 09S1A030.015 And David said to him, Canst thou bring me down to this company? And he said, Swear unto me by God, that thou wilt neither kill me, nor deliver me into the hands of my master, and I will bring thee down to this company. %%% Dawudi n'amugamba nti Ononserengesa eri ekibiina kino? N'ayogera ati Ndayirira Katonda nga tolinzita so tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, nange naakuserengesa eri ekibiina kino. 09S1A030.016 And when he had brought him down, behold, they were spread abroad upon all the earth, eating and drinking, and dancing, because of all the great spoil that they had taken out of the land of the Philistines, and out of the land of Judah. %%% Awo bwe yamuserengesa, laba, nga beesuddesudde ku ttaka lyonna, nga balya nga banywa, nga bafumba embaga, olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda. 09S1A030.017 And David smote them from the twilight even unto the evening of the next day: and there escaped not a man of them, save four hundred young men, which rode upon camels, and fled. %%% Awo Dawudi n'abatta okutanula ekiro okutuusa olw'enkya lwe lwawungeera: ne watawonako n'omu, wabula abalenzi ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka. 09S1A030.018 And David recovered all that the Amalekites had carried away: and David rescued his two wives. %%% Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze: Dawudi n'awonya bakazi be bombi. 09S1A030.019 And there was nothing lacking to them, neither small nor great, neither sons nor daughters, neither spoil, nor any thing that they had taken to them: David recovered all. %%% Ne batabulwa kintu, oba kitono oba kinene, newakubadde abaana ab'obulenzi newakubadde ab'obuwala newakubadde omunyago newakubadde ekintu kyonna kye baali beenyagidde: Dawudi n’akomyawo byonna. 09S1A030.020 And David took all the flocks and the herds, which they drave before those other cattle, and said, This is David's spoil. %%% Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti Guno gwe munyago gwa Dawudi. 09S1A030.021 And David came to the two hundred men, which were so faint that they could not follow David, whom they had made also to abide at the brook Besor: and they went forth to meet David, and to meet the people that were with him: and when David came near to the people, he saluted them. %%% Dawudi n'ajja eri abasajja ebikumi ebibiri, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kugoberera Dawudi, era be baatuuza ku kagga Besoli: ne bafuluma okusisinkana ne Dawudi n'okusisinkana n’abantu abaali naye: awo Dawudi bwe yasemberera abantu, n'abalamusa. 09S1A030.022 Then answered all the wicked men and men of Belial, of those that went with David, and said, Because they went not with us, we will not give them ought of the spoil that we have recovered, save to every man his wife and his children, that they may lead them away, and depart. %%% Awo abantu bonna ababi n'abantu ba Beriali ku abo abaagenda ne Dawudi ne baddamu ne boogera nti Kubanga tebaagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tubasuuzizza, wabula buli muntu mukazi we n’abaana be, babatwale bagende. 09S1A030.023 Then said David, Ye shall not do so, my brethren, with that which the LORD hath given us, who hath preserved us, and delivered the company that came against us into our hand. %%% Awo Dawudi n’ayogera nti Baganda bange, si bwe mugenda kukola ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala. 09S1A030.024 For who will hearken unto you in this matter? but as his part is that goeth down to the battle, so shall his part be that tarrieth by the stuff: they shall part alike. %%% Era ani anaabawulira mu kigamho ekyo? kuba omugabo gw'oyo aserengeta mu lutalo nga bwe guli, bwe gutyo bwe gunaabeera omugabo gw'oyo asigala ku bintu: banaagabana okwenkanankana. 09S1A030.025 And it was so from that day forward, that he made it a statute and an ordinance for Israel unto this day. %%% Awo olwatuuka okuva ku lunaku olwo n'alifuula etteeka n'empisa eri Isiraeri ne leero. 09S1A030.026 And when David came to Ziklag, he sent of the spoil unto the elders of Judah, even to his friends, saying, Behold a present for you of the spoil of the enemies of the LORD; %%% Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'ayogera nti Laba ekirabo kyammwe eky'oku munyago gw'abalabe ba Mukama; 09S1A030.027 To them which were in Bethel, and to them which were in south Ramoth, and to them which were in Jattir, %%% abo abaali mu Beseri, n'abo abaali mu Lamosi eky'obukiika obwa ddyo, n'abo abaali mu Yattiri; 09S1A030.028 And to them which were in Aroer, and to them which were in Siphmoth, and to them which were in Eshtemoa, %%% n'abo abaali mu Aloweri, n'abo abaali mu Sifumosi, n'abo abaali mu Esutemoa; 09S1A030.029 And to them which were in Rachal, and to them which were in the cities of the Jerahmeelites, and to them which were in the cities of the Kenites, %%% n'abo abaali mu Lakali, n'abo abaali mu bibuga eby'Abayerameeri, n'abo abaali mu bibuga eby'Abakeeni; 09S1A030.030 And to them which were in Hormah, and to them which were in Chorashan, and to them which were in Athach, %%% n'abo abaali mu Koluma, n'abo abaali mu Kolasani, n'abo abaali mu Asaki; 09S1A030.031 And to them which were in Hebron, and to all the places where David himself and his men were wont to haunt. %%% n'abo abaali mu Kebbulooni, n'ebifo byonna Dawudi yennyini n'abasajja be gye baamanyiiranga okubeera. 09S1A031.001 Now the Philistines fought against Israel: and the men of Israel fled from before the Philistines, and fell down slain in mount Gilboa. %%% Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti, ne bagwa nga battiddwa ku lusozi Girubowa. 09S1A031.002 And the Philistines followed hard upon Saul and upon his sons; and the Philistines slew Jonathan, and Abinadab, and Melchishua, Saul's sons. %%% Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo. 09S1A031.003 And the battle went sore against Saul, and the archers hit him; and he was sore wounded of the archers. %%% Olutalo ne lumuba bubi Sawulo, abalasi ne bamutuukako; ne yeeraliikirira nnyo olw'abalasi. 09S1A031.004 Then said Saul unto his armourbearer, Draw thy sword, and thrust me through therewith; lest these uncircumcised come and thrust me through, and abuse me. But his armourbearer would not; for he was sore afraid. Therefore Saul took a sword, and fell upon it. %%% Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banfumita ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako. 09S1A031.005 And when his armourbearer saw that Saul was dead, he fell likewise upon his sword, and died with him. %%% Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye. 09S1A031.006 So Saul died, and his three sons, and his armourbearer, and all his men, that same day together. %%% Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ku lunaku olwo wamu. 09S1A031.007 And when the men of Israel that were on the other side of the valley, and they that were on the other side Jordan, saw that the men of Israel fled, and that Saul and his sons were dead, they forsook the cities, and fled; and the Philistines came and dwelt in them. %%% Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. 09S1A031.008 And it came to pass on the morrow, when the Philistines came to strip the slain, that they found Saul and his three sons fallen in mount Gilboa. %%% Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa. 09S1A031.009 And they cut off his head, and stripped off his armour, and sent into the land of the Philistines round about, to publish it in the house of their idols, and among the people. %%% Ne bamusalako omutwe, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi ey'Abafirisuuti enjuyi zonna, okubuulira ebigambo ebyo mu masabo omwali ebifaananyi byabwe ne mu bantu. 09S1A031.010 And they put his armour in the house of Ashtaroth: and they fastened his body to the wall of Bethshan. %%% Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu nnyumba ya Baasutaloosi: ne basiba omulambo gwe ku bbugwe ow'e Besusani. 09S1A031.011 And when the inhabitants of Jabeshgilead heard of that which the Philistines had done to Saul; %%% Awo ab'e Yabesugireyaadi bwe baamuwulirako ekyo Abafirisuuti kye baakola Sawulo, 09S1A031.012 All the valiant men arose, and went all night, and took the body of Saul and the bodies of his sons from the wall of Bethshan, and came to Jabesh, and burnt them there. %%% awo abazira bonna ne bagolokoka ne batambula ne bakeesa obudde ne baggya omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be ku bbugwe w'e Besusani, ne bajja e Yabesi ne bagyokera eyo. 09S1A031.013 And they took their bones, and buried them under a tree at Jabesh, and fasted seven days. %%% Ne baddira amagumba gaabwe, ne bagaziika wansi w'omumyuliru e Yabesi ne basiibira ennaku musanvu. 10S2A001.001 Now it came to pass after the death of Saul, when David was returned from the slaughter of the Amalekites, and David had abode two days in Ziklag; %%% Awo olwatuuka Sawulo ng'amaze okufa, Dawudi ng'akomyewo ng'amaze okutta Abamaleki, era Dawudi ng'amaze ennaku bbiri e Zikulagi: 10S2A001.002 It came even to pass on the third day, that, behold, a man came out of the camp from Saul with his clothes rent, and earth upon his head: and so it was, when he came to David, that he fell to the earth, and did obeisance. %%% awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, laba, omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe: awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza. 10S2A001.003 And David said unto him, From whence comest thou? And he said unto him, Out of the camp of Israel am I escaped. %%% Dawudi n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Mponye mu lusiisira lwa Isiraeri. 10S2A001.004 And David said unto him, How went the matter? I pray thee, tell me. And he answered, That the people are fled from the battle, and many of the people also are fallen and dead; and Saul and Jonathan his son are dead also. %%% Dawudi n'amugamba nti Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira. N'addamu nti Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde nabo. 10S2A001.005 And David said unto the young man that told him, How knowest thou that Saul and Jonathan his son be dead? %%% Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Omanyira ku ki nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde? 10S2A001.006 And the young man that told him said, As I happened by chance upon mount Gilboa, behold, Saul leaned upon his spear; and, lo, the chariots and horsemen followed hard after him. %%% Omulenzi eyamubuulira n'ayogera nti Bwe nnali ndi awo ku lusozi Girubowa, laba, Sawulo ne yeesigama ku ffumu lye; awo, laba, amagaali n'abeebagala embalaasi ne bamucocca. 10S2A001.007 And when he looked behind him, he saw me, and called unto me. And I answered, Here am I. %%% Awo bwe yakebuka, n'andaba n'ampita. Ne nziramu nti Nze nzuuno. 10S2A001.008 And he said unto me, Who art thou? And I answered him, I am an Amalekite. %%% N'aŋŋamba nti Ggwe ani? Ne mmuddamu nti Nze ndi Mwamaleki. 10S2A001.009 He said unto me again, Stand, I pray thee, upon me, and slay me: for anguish is come upon me, because my life is yet whole in me. %%% N'aŋŋamba nti Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga obubalagaze bunkutte; kubanga obulamu bwange bukyali bulamu mu nze. 10S2A001.010 So I stood upon him, and slew him, because I was sure that he could not live after that he was fallen: and I took the crown that was upon his head, and the bracelet that was on his arm, and have brought them hither unto my lord. %%% Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu ng'amaze okugwa: ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbireese wano eri mukama wange. 10S2A001.011 Then David took hold on his clothes, and rent them; and likewise all the men that were with him: %%% Awo Dawudi n'akwata engoye ze n'aziyuza; era bwe batyo abasajja bonna abaali naye: 10S2A001.012 And they mourned, and wept, and fasted until even, for Saul, and for Jonathan his son, and for the people of the LORD, and for the house of Israel; because they were fallen by the sword. %%% ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga bagudde n'ekitala. 10S2A001.013 And David said unto the young man that told him, Whence art thou? And he answered, I am the son of a stranger, an Amalekite. %%% Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Oli wa wa? N'addamu nti Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki. 10S2A001.014 And David said unto him, How wast thou not afraid to stretch forth thine hand to destroy the LORD's anointed? %%% Dawudi n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okutya okugolola omukono gwo okuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako amafuta? 10S2A001.015 And David called one of the young men, and said, Go near, and fall upon him. And he smote him that he died. %%% Dawudi n'ayita omu ku balenzi n'ayogera nti Sembera omugweko. N'amufumita n'afa. 10S2A001.016 And David said unto him, Thy blood be upon thy head; for thy mouth hath testified against thee, saying, I have slain the LORD's anointed. %%% Dawudi n'amugamba nti Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; kubanga akamwa ko ye mujulirwa gy'oli ng'oyogera nti Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 10S2A001.017 And David lamented with this lamentation over Saul and over Jonathan his son: %%% Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we okukungubaga kuno: 10S2A001.018 (Also he bade them teach the children of Judah the use of the bow: behold, it is written in the book of Jasher.) %%% n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda (oluyimba) olw'omutego: laba, lwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. 10S2A001.019 The beauty of Israel is slain upon thy high places: how are the mighty fallen! %%% Ekitiibwa kyo, ai Isiraeri, kittiddwa ku bifo byo ebigulumivu. Ab'amaanyi nga bagudde! 10S2A001.020 Tell it not in Gath, publish it not in the streets of Askelon; lest the daughters of the Philistines rejoice, lest the daughters of the uncircumcised triumph. %%% Temukibuuliranga mu Gaasi, Temukyatulanga mu nguudo za Asukulooni; Abawala b'Abafirisuuti baleme okusanyuka, Abawala b'abatali bakomole baleme okujaguza. 10S2A001.021 Ye mountains of Gilboa, let there be no dew, neither let there be rain, upon you, nor fields of offerings: for there the shield of the mighty is vilely cast away, the shield of Saul, as though he had not been anointed with oil. %%% Mmwe ensozi za Girubowa, Ku mmwe kuleme okubaako omusulo newakubadde enkuba, newakubadde ensuku ez'ebiweebwayo: Kubanga eyo engabo ey'ab'amaanyi gye yasuulibwa obubi, Engabo ya Sawulo, ng'ataafukibwako mafuta. 10S2A001.022 From the blood of the slain, from the fat of the mighty, the bow of Jonathan turned not back, and the sword of Saul returned not empty. %%% Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga nnyuma Okuva ku musaayi gw'abattibwa, ku masavu g'ab'amaanyi, N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere. 10S2A001.023 Saul and Jonathan were lovely and pleasant in their lives, and in their death they were not divided: they were swifter than eagles, they were stronger than lions. %%% Sawulo ne Yonasaani baali balungi era ba kusanyusa mu bulamu bwabwe, Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa; Baali ba mbiro okusinga empungu, Baali ba maanyi okusinga empologoma. 10S2A001.024 Ye daughters of Israel, weep over Saul, who clothed you in scarlet, with other delights, who put on ornaments of gold upon your apparel. %%% Mmwe abawala ba Isiraeri, mukaabire Sawulo, Eyabambaza engoye ezitwakaala ez'okwesiima, Eyayonja ebyambalo byammwe ne zaabu. 10S2A001.025 How are the mighty fallen in the midst of the battle! O Jonathan, thou wast slain in thine high places. %%% Ab'amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu. 10S2A001.026 I am distressed for thee, my brother Jonathan: very pleasant hast thou been unto me: thy love to me was wonderful, passing the love of women. %%% Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani: Wansanyusanga nnyo nnyini: Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, Nga kusinga okwagala kw'abakazi. 10S2A001.027 How are the mighty fallen, and the weapons of war perished! %%% Ab'amaanyi nga bagudde, N'ebyokulwanyisa nga bizikiridde! 10S2A002.001 And it came to pass after this, that David enquired of the LORD, saying, Shall I go up into any of the cities of Judah? And the LORD said unto him, Go up. And David said, Whither shall I go up? And he said, Unto Hebron. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda? Mukama n'amugamba nti Yambuka. Dawudi n'ayogera nti Naayambuka wa? N'ayogera nti e Kebbulooni. 10S2A002.002 So David went up thither, and his two wives also, Ahinoam the Jezreelitess, and Abigail Nabal's wife the Carmelite. %%% Awo Dawudi n'ayambukayo, era ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri. 10S2A002.003 And his men that were with him did David bring up, every man with his household: and they dwelt in the cities of Hebron. %%% N'abasajja be abaali naye n'abambusa, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye: ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni. 10S2A002.004 And the men of Judah came, and there they anointed David king over the house of Judah. And they told David, saying, That the men of Jabeshgilead were they that buried Saul. %%% Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo. 10S2A002.005 And David sent messengers unto the men of Jabeshgilead, and said unto them, Blessed be ye of the LORD, that ye have shewed this kindness unto your lord, even unto Saul, and have buried him. %%% Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika. 10S2A002.006 And now the LORD shew kindness and truth unto you: and I also will requite you this kindness, because ye have done this thing. %%% Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima: nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo kino. 10S2A002.007 Therefore now let your hands be strengthened, and be ye valiant: for your master Saul is dead, and also the house of Judah have anointed me king over them. %%% Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira: kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe. 10S2A002.008 But Abner the son of Ner, captain of Saul's host, took Ishbosheth the son of Saul, and brought him over to Mahanaim; %%% Era Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Sawulo, yali atutte Isubosesi mutabani wa Sawulo, n'amusomosa n'amutwala e Makanayimu; 10S2A002.009 And made him king over Gilead, and over the Ashurites, and over Jezreel, and over Ephraim, and over Benjamin, and over all Israel. %%% n'amufuula kabaka w'e Gireyaadi era ow'Abasuuli era ow'e Yezuleeri era owa Efulayimu era owa Benyamini era owa Isiraeri yenna. 10S2A002.010 Ishbosheth Saul's son was forty years old when he began to reign over Israel, and reigned two years. But the house of Judah followed David. %%% (Isubosesi mutabani wa Sawulo yali yaakamaze emyaka ana bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri.) Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawvdi. 10S2A002.011 And the time that David was king in Hebron over the house of Judah was seven years and six months. %%% N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali myaka musanvu ko emyezi mukaaga. 10S2A002.012 And Abner the son of Ner, and the servants of Ishbosheth the son of Saul, went out from Mahanaim to Gibeon. %%% Awo Abuneeri mutabani wa Neeri n'abaddu ba Isubosesi mutabani wa Sawulo ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni. 10S2A002.013 And Joab the son of Zeruiah, and the servants of David, went out, and met together by the pool of Gibeon: and they sat down, the one on the one side of the pool, and the other on the other side of the pool. %%% Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ne batuula, bano emitala w'eno w'ekidiba, na bali emitala w'eri w'ekidiba. 10S2A002.014 And Abner said to Joab, Let the young men now arise, and play before us. And Joab said, Let them arise. %%% Awo Abuneeri n'agamba Yowaabu nti Nkwegayiridde, abalenzi bagolokoke bazannyire mu maaso gaffe. Yowaabu n'ayogera nti Bagolokoke. 10S2A002.015 Then there arose and went over by number twelve of Benjamin, which pertained to Ishbosheth the son of Saul, and twelve of the servants of David. %%% Awo ne bagolokoka ne basomoka nga babaliddwa; aba Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo kkumi na babiri, ne ku baddu ba Dawudi kkumi na babiri. 10S2A002.016 And they caught every one his fellow by the head, and thrust his sword in his fellow's side; so they fell down together: wherefore that place was called Helkathhazzurim, which is in Gibeon. %%% Ne bakwata buli muntu munne omutwe, ne bafumita buli muntu olubiriizi lwa munne n'ekitala; awo ne bagwira wamu: ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Kerukasu-kazzulimu, ekiri mu Gibyoni. 10S2A002.017 And there was a very sore battle that day; and Abner was beaten, and the men of Israel, before the servants of David. %%% Olutalo ne luba lukakanyavu nnyo ku lunaku olwo; Abuneeri n'agobebwa n'abasajja ba Isiraeri mu maaso g'abaddu ba Dawudi. 10S2A002.018 And there were three sons of Zeruiah there, Joab, and Abishai, and Asahel: and Asahel was as light of foot as a wild roe. %%% Era batabani ba Zeruyiya bonsatule baali eyo, Yowaabu ne Abisaayi ne Asakeri: era Asakeri yali wa mbiro ng'empeewo ey'omu ttale. 10S2A002.019 And Asahel pursued after Abner; and in going he turned not to the right hand nor to the left from following Abner. %%% Asakeri n'agoberera Abuneeri; awo ng'agenda nga takyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okugoberera Abuneeri. 10S2A002.020 Then Abner looked behind him, and said, Art thou Asahel? And he answered, I am. %%% Awo Abuneeri n'akebuka n'ayogera nti Asakeri, ggwe wuuyo? N'addamu nti Nze nzuuno. 10S2A002.021 And Abner said to him, Turn thee aside to thy right hand or to thy left, and lay thee hold on one of the young men, and take thee his armour. But Asahel would not turn aside from following of him. %%% Awo Abuneeri n'amugamba nti Kyama ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku gwa kkono, okwate omu ku balenzi weetwalire ebyokulwanyisa bye. Naye Asakeri n'atakkiriza kukyama obutamugoberera. 10S2A002.022 And Abner said again to Asahel, Turn thee aside from following me: wherefore should I smite thee to the ground? how then should I hold up my face to Joab thy brother? %%% Awo Abuneeri n'agamba Asakeri nate nti Kyama obutangoberera: kiki ekinaaba kikunkubya wansi? awo ndimuyimusiza ntya amaaso gange Yowaabu muganda wo? 10S2A002.023 Howbeit he refused to turn aside: wherefore Abner with the hinder end of the spear smote him under the fifth rib, that the spear came out behind him; and he fell down there, and died in the same place: and it came to pass, that as many as came to the place where Asahel fell down and died stood still. %%% Naye n'agaana okukyama: Abuneeri kyeyava amufumita olubuto n'omuwunda gw'effumu, effumu ne liyitamu ne ligukkira ennyuma we; n'agwira awo n'afiira mu kifo omwo: awo olwatuuka abo bonna abaatuuka mu kifo Asakeri we yagwira n'afa ne bayimirira. 10S2A002.024 Joab also and Abishai pursued after Abner: and the sun went down when they were come to the hill of Ammah, that lieth before Giah by the way of the wilderness of Gibeon. %%% Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoberera Abuneeri: awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi Amma, oluli mu maaso g'e Giya mu kkubo ery'eddungu ery'e Gibyoni. 10S2A002.025 And the children of Benjamin gathered themselves together after Abner, and became one troop, and stood on the top of an hill. %%% Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi. 10S2A002.026 Then Abner called to Joab, and said, Shall the sword devour for ever? knowest thou not that it will be bitterness in the latter end? how long shall it be then, ere thou bid the people return from following their brethren? %%% Awo Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'ayogera nti Ekitala kirirya ennaku zonna? tomanyi nga walibaawo obubalagaze ku nkomerero ey'oluvannyuma? kale olituusa wa obutalagira bantu kuddayo obutagoberera baganda baabwe? 10S2A002.027 And Joab said, As God liveth, unless thou hadst spoken, surely then in the morning the people had gone up every one from following his brother. %%% Yowaabu n'ayogera nti Katonda nga bw'ali omulamu, singa toyogedde, kale enkya abantu tebandiremye kugenda, so tebandigoberedde buli muntu muganda we. 10S2A002.028 So Joab blew a trumpet, and all the people stood still, and pursued after Israel no more, neither fought they any more. %%% Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kugoberera Isiraeri, so tebaalwana nate lwa kubiri. 10S2A002.029 And Abner and his men walked all that night through the plain, and passed over Jordan, and went through all Bithron, and they came to Mahanaim. %%% Awo Abuneeri n'abasajja be ne batambula mu Alaba ne bakeesa obudde; ne basomoka Yoludaani, ne bayita mu Bisulooni yonna ne bajja e Makanayimu. 10S2A002.030 And Joab returned from following Abner: and when he had gathered all the people together, there lacked of David's servants nineteen men and Asahel. %%% Awo Yowaabu n'addayo ng'alese okugoberera Abuneeri: awo bwe yakuŋŋaanya abantu bonna, ku baddu ba Dawudi nga kubuzeeko abasajja kkumi na mwenda ne Asakeri. 10S2A002.031 But the servants of David had smitten of Benjamin, and of Abner's men, so that three hundred and threescore men died. %%% Naye abaddu ba Dawudi baali bafumise bwe batyo ku Benyamini n'abasajja ba Abuneeri n'okufa ne wafa abasajja ebikumi bisatu mu nkaaga. 10S2A002.032 And they took up Asahel, and buried him in the sepulchre of his father, which was in Bethlehem. And Joab and his men went all night, and they came to Hebron at break of day. %%% Ne basitula Asakeri ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu. Yowaabu n'abasajja be ne batambula ne bakeesa obudde, ne bubakeererera e Kebbulooni. 10S2A003.001 Now there was long war between the house of Saul and the house of David: but David waxed stronger and stronger, and the house of Saul waxed weaker and weaker. %%% Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi: Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu. 10S2A003.002 And unto David were sons born in Hebron: and his firstborn was Amnon, of Ahinoam the Jezreelitess; %%% Awo Dawudi n'azaalirwa abaana ab'obulenzi e Kebbulooni: n'omubereberye yali Amunoni, owa Akinoamu Omuyezuleeri; 10S2A003.003 And his second, Chileab, of Abigail the wife of Nabal the Carmelite; and the third, Absalom the son of Maacah the daughter of Talmai king of Geshur; %%% n'ow'okubiri Kireyaabu, owa Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri; n'ow'okusatu Abusaalomu mutabani wa Maaka muwala ma Talumaayi kabaka w'e Gesuli; 10S2A003.004 And the fourth, Adonijah the son of Haggith; and the fifth, Shephatiah the son of Abital; %%% 'ow'okuna Adoniya mutabani wa Kaggisi; n'ow'okutaano Sefatiya mutabani wa Abitali; 10S2A003.005 And the sixth, Ithream, by Eglah David's wife. These were born to David in Hebron. %%% n'ow'omukaaga Isuleyamu, owa Egula mukazi wa Dawudi. Abo be baazaalirwa Dawudi e Kebbulooni. 10S2A003.006 And it came to pass, while there was war between the house of Saul and the house of David, that Abner made himself strong for the house of Saul. %%% Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi mu nnyumba ya Sawulo. 10S2A003.007 And Saul had a concubine, whose name was Rizpah, the daughter of Aiah: and Ishbosheth said to Abner, Wherefore hast thou gone in unto my father's concubine? %%% Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya: (Isubosesi) n'agamba Abuneeri nti Kiki ekikuyingizizza eri muzaana wa kitange? 10S2A003.008 Then was Abner very wroth for the words of Ishbosheth, and said, Am I a dog's head, which against Judah do shew kindness this day unto the house of Saul thy father, to his brethren, and to his friends, and have not delivered thee into the hand of David, that thou chargest me to day with a fault concerning this woman? %%% Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti Nze mutwe gw'embwa ogwa Yuda? Leero ndaga ekisa ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, era naye onnanze omusango ogw'omukazi oyo. 10S2A003.009 So do God to Abner, and more also, except, as the LORD hath sworn to David, even so I do to him; %%% Katonda akole bw'atyo Abuneeri n'okukirawo, bwe sirikolera ddala Dawudi nga Mukama bwe yamulayirira; 10S2A003.010 To translate the kingdom from the house of Saul, and to set up the throne of David over Israel and over Judah, from Dan even to Beersheba. %%% okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba. 10S2A003.011 And he could not answer Abner a word again, because he feared him. %%% N'atayinza kumwanukula Abuneeri kigambo kirala, kubanga yamutya. 10S2A003.012 And Abner sent messengers to David on his behalf, saying, Whose is the land? saying also, Make thy league with me, and, behold, my hand shall be with thee, to bring about all Israel unto thee. %%% Awo Abuneeri n'atumira Dawudi ababaka ku bubwe ye, ng'ayogera nti Nannyini nsi ye ani? era nti Lagaana nange, era, laba, omukono gwange guliba naawe okukukyukiza Isiraeri yenna. 10S2A003.013 And he said, Well; I will make a league with thee: but one thing I require of thee, that is, Thou shalt not see my face, except thou first bring Michal Saul's daughter, when thou comest to see my face. %%% N'ayogera nti Kale; ndiragaana naawe: naye waliwo ekimu kye nkussaako nga toliraba maaso gange, bw'otolimala kuleeta Mikali muwala wa Sawulo, bw'olijja okulaba amaaso gange. 10S2A003.014 And David sent messengers to Ishbosheth Saul's son, saying, Deliver me my wife Michal, which I espoused to me for an hundred foreskins of the Philistines. %%% Awo Dawudi n'atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng'ayogera nti Mpa mukazi wange Mikali gwe nnayogereza n'ebikuta ekikumi eby'Abafirisuuti. 10S2A003.015 And Ishbosheth sent, and took her from her husband, even from Phaltiel the son of Laish. %%% Awo Isubosesi n'atuma n'amuggya ku bba, ye Palutieri mutabani wa Layisi. 10S2A003.016 And her husband went with her along weeping behind her to Bahurim. Then said Abner unto him, Go, return. And he returned. %%% Bba n'agenda naye ng'agenda ng'akaaba, n'amugoberera e Bakulimu. Awo Abuneeri n'amugamba nti Genda oddeyo: n'addayo. 10S2A003.017 And Abner had communication with the elders of Israel, saying, Ye sought for David in times past to be king over you: %%% Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe: 10S2A003.018 Now then do it: for the LORD hath spoken of David, saying, By the hand of my servant David I will save my people Israel out of the hand of the Philistines, and out of the hand of all their enemies. %%% kale nno kaakano mukikole: kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi bwe ndirokola abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna. 10S2A003.019 And Abner also spake in the ears of Benjamin: and Abner went also to speak in the ears of David in Hebron all that seemed good to Israel, and that seemed good to the whole house of Benjamin. %%% Abuneeri n'ayogera ne mu matu ga Benyamini: era Abuneeri n'agenda okwogera ne mu matu ga Dawudi e Kebbulooni byonna Isiraeri n'ennyumba yonna eya Benyamini bye baasiima. 10S2A003.020 So Abner came to David to Hebron, and twenty men with him. And David made Abner and the men that were with him a feast. %%% Awo Abuneeri n'ajja eri Dawudi e Kebbulooni n'abasajja amakumi abiri wamu naye. Dawudi n'afumbira embaga Abuneeri n'abasajja abaali naye. 10S2A003.021 And Abner said unto David, I will arise and go, and will gather all Israel unto my lord the king, that they may make a league with thee, and that thou mayest reign over all that thine heart desireth. And David sent Abner away; and he went in peace. %%% Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti Naagolokoka ne ŋŋenda ne nkuŋŋaanya Isiraeri yenna eri mukama wange kabaka, balagaane endagaano naawe, era ofuge bonna emmeeme yo be yeegomba. Dawudi n'asindika Abuneeri n'agenda mirembe. 10S2A003.022 And, behold, the servants of David and Joab came from pursuing a troop, and brought in a great spoil with them: but Abner was not with David in Hebron; for he had sent him away, and he was gone in peace. %%% Awo, laba, abaddu ba Dawudi ne Yowaabu ne bakomawo okukwekweta, ne baleeta nabo omunyago omungi: naye Abuneeri teyali ne Dawudi e Kebbulooni; kubanga yali amusindise, naye ng'agenze mirembe. 10S2A003.023 When Joab and all the host that was with him were come, they told Joab, saying, Abner the son of Ner came to the king, and he hath sent him away, and he is gone in peace. %%% Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusindise, era yagenze mirembe. 10S2A003.024 Then Joab came to the king, and said, What hast thou done? behold, Abner came unto thee; why is it that thou hast sent him away, and he is quite gone? %%% Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'ayogera nti Okoze ki? laba, Abuneeri yazze gy'oli; wamusindikidde ki, era agendedde ddala? 10S2A003.025 Thou knowest Abner the son of Ner, that he came to deceive thee, and to know thy going out and thy coming in, and to know all that thou doest. %%% Omanyi Abuneeri mutabani wa Neeri ng'azze okukulimba n'okumanya bw'ofuluma n'oyingira n'okumanya byonna by'okola: 10S2A003.026 And when Joab was come out from David, he sent messengers after Abner, which brought him again from the well of Sirah: but David knew it not. %%% Awo Yowaabu bwe yafuluma okuva eri Dawudi, n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira: naye Dawudi n'atakimanya. 10S2A003.027 And when Abner was returned to Hebron, Joab took him aside in the gate to speak with him quietly, and smote him there under the fifth rib, that he died, for the blood of Asahel his brother. %%% Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n'amwawulamu n'amutwala mu mulyango wakati okwogera naye mu kyama, n'amufumitira eyo olubuto, n'afa, olw'omusaayi gwa Asakeri muganda we. 10S2A003.028 And afterward when David heard it, he said, I and my kingdom are guiltless before the LORD for ever from the blood of Abner the son of Ner: %%% Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri: 10S2A003.029 Let it rest on the head of Joab, and on all his father's house; and let there not fail from the house of Joab one that hath an issue, or that is a leper, or that leaneth on a staff, or that falleth on the sword, or that lacketh bread. %%% gugwe ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba yonna eya kitaawe; so mu nnyumba ya Yowaabu temubulanga muziku oba mugenge oba eyeesigama ku muggo oba agwa n'ekitala oba abulwa emmere. 10S2A003.030 So Joab and Abishai his brother slew Abner, because he had slain their brother Asahel at Gibeon in the battle. %%% Bwe batyo Yowaabu ne Abisaayi muganda we bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo. 10S2A003.031 And David said to Joab, and to all the people that were with him, Rend your clothes, and gird you with sackcloth, and mourn before Abner. And king David himself followed the bier. %%% Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna abaali naye nti Muyuze engoye zammwe mwesibe ebibukutu mukaabe mu maaso ga Abuneeri. Kabaka Dawudi n'agoberera olunyo. 10S2A003.032 And they buried Abner in Hebron: and the king lifted up his voice, and wept at the grave of Abner; and all the people wept. %%% Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni: kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga. 10S2A003.033 And the king lamented over Abner, and said, Died Abner as a fool dieth? %%% Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'ayogera nti Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa? 10S2A003.034 Thy hands were not bound, nor thy feet put into fetters: as a man falleth before wicked men, so fellest thou. And all the people wept again over him. %%% Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba: Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo. Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga. 10S2A003.035 And when all the people came to cause David to eat meat while it was yet day, David sware, saying, So do God to me, and more also, if I taste bread, or ought else, till the sun be down. %%% Abantu bonna ne bajja okuliisa Dawudi emmere obudde nga bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa. 10S2A003.036 And all the people took notice of it, and it pleased them: as whatsoever the king did pleased all the people. %%% Abantu bonna ne bakitegeera ne kibasanyusa: era nga byonna kabaka bye yakola bwe byasanyusanga abantu bonna. 10S2A003.037 For all the people and all Israel understood that day that it was not of the king to slay Abner the son of Ner. %%% Awo abantu bonna ne Isiraeri yenna ne bategeera ku lunaku olwo nga tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri. 10S2A003.038 And the king said unto his servants, Know ye not that there is a prince and a great man fallen this day in Israel? %%% Kabaka n'agamba abaddu be nti Temumanyi nga mu Isiraeri mugudde leero omusajja omukulu era ow'ekitiibwa. 10S2A003.039 And I am this day weak, though anointed king; and these men the sons of Zeruiah be too hard for me: the LORD shall reward the doer of evil according to his wickedness. %%% Nange leero ndi munafu newakubadde nga nfukiddwako amafuta okuba kabaka: n'abasajja bano batabani ba Zeruyiya bannyinze obukakanyavu: Mukama asasule akoze ekibi ng'obubi bwe bwe buli. 10S2A004.001 And when Saul's son heard that Abner was dead in Hebron, his hands were feeble, and all the Israelites were troubled. %%% Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng'afiiridde e Kebbulooni, emikono gye ne giyongobera, Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira. 10S2A004.002 And Saul's son had two men that were captains of bands: the name of the one was Baanah, and the name of the other Rechab, the sons of Rimmon a Beerothite, of the children of Benjamin: (for Beeroth also was reckoned to Benjamin. %%% Era Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri abaami b'ebibiina: omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini: (kubanga ne Beerosi kibalirwa Benyamini: 10S2A004.003 And the Beerothites fled to Gittaim, and were sojourners there until this day.) %%% ab'e Beerosi ne baddukira e Gittayimu ne babeera eyo na guno gujwa.) 10S2A004.004 And Jonathan, Saul's son, had a son that was lame of his feet. He was five years old when the tidings came of Saul and Jonathan out of Jezreel, and his nurse took him up, and fled: and it came to pass, as she made haste to flee, that he fell, and became lame. And his name was Mephibosheth. %%% Era Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana eyalemala ebigere. Yali yaakamaze emyaka etaano ebigambo bwe byatuuka okuva mu Yezuleeri ebya Sawulo ne Yonasaani, omulezi we n'amusitula n'adduka: awo olwatuuka bwe yayanguwa okudduka n'agwa n'alemala. N'erinnya lye lyali Mefibosesi. 10S2A004.005 And the sons of Rimmon the Beerothite, Rechab and Baanah, went, and came about the heat of the day to the house of Ishbosheth, who lay on a bed at noon. %%% Awo batabani ba Limmoni Omubeerosi, Lekabu ne Baana, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi omusana nga gukazizza, bwe yali ng'awummudde mu ttuntu: 10S2A004.006 And they came thither into the midst of the house, as though they would have fetched wheat; and they smote him under the fifth rib: and Rechab and Baanah his brother escaped. %%% Ne bajjayo wakati mu nnyumba ng'abaagala okukima eŋŋaano; ne bamufumita olubuto: Lekabu ne Baana muganda we ne bawona. 10S2A004.007 For when they came into the house, he lay on his bed in his bedchamber, and they smote him, and slew him, and beheaded him, and took his head, and gat them away through the plain all night. %%% Awo bwe baatuuka mu nnyumba, ng'agalamidde ku kitanda kye mu nju ye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako omutwe, ne batwala omutwe gwe, ne batambula mu kkubo erya Alaba ne bakeesa obudde. 10S2A004.008 And they brought the head of Ishbosheth unto David to Hebron, and said to the king, Behold the head of Ishbosheth the son of Saul thine enemy, which sought thy life; and the LORD hath avenged my lord the king this day of Saul, and of his seed. %%% Ne bamuleetera Dawudi omutwe gwa Isubosesi e Kebbulooni, ne bagamba kabaka nti Laba omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyanoonya obulamu bwo: era Mukama awalanye eggwanga lya mukama wange kabaka leero ku Sawulo ne ku zzadde lye. 10S2A004.009 And David answered Rechab and Baanah his brother, the sons of Rimmon the Beerothite, and said unto them, As the LORD liveth, who hath redeemed my soul out of all adversity, %%% Awo Dawudi n'addamu Lekabu ne Baana muganda we, batabani ba Limmoni Omubeerosi, n'abagamba nti Mukama nga bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange mu kulaba ennaku kwonna, 10S2A004.010 When one told me, saying, Behold, Saul is dead, thinking to have brought good tidings, I took hold of him, and slew him in Ziklag, who thought that I would have given him a reward for his tidings: %%% omuntu bwe yambuulira nti Laba, Sawulo afudde, ng'alowooza okuleeta ebigambo ebirungi, awo ne mmukwata ne mmuttira e Zikulagi, ye mpeera gye nnamuwa olw'ebigambo bye. 10S2A004.011 How much more, when wicked men have slain a righteous person in his own house upon his bed? shall I not therefore now require his blood of your hand, and take you away from the earth? %%% Kale, abantu ababi nga battidde omuntu omutuukirivu mu nnyumba ye ku kitanda kye, sirisinga nnyo kaakano kuvunaana musaayi gwe mu mukono gwammwe, ne mbaggya ku nsi? 10S2A004.012 And David commanded his young men, and they slew them, and cut off their hands and their feet, and hanged them up over the pool in Hebron. But they took the head of Ishbosheth, and buried it in the sepulchre of Abner in Hebron. %%% Awo Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta ne babasalako engalo n'ebigere ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Naye ne batwala omutwe gwa Isubosesi ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni. 10S2A005.001 Then came all the tribes of Israel to David unto Hebron, and spake, saying, Behold, we are thy bone and thy flesh. %%% Awo ebika byonna ebya Isiraeri ne bajja eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti Laba, tuli magumba go era mubiri gwo. 10S2A005.002 Also in time past, when Saul was king over us, thou wast he that leddest out and broughtest in Israel: and the LORD said to thee, Thou shalt feed my people Israel, and thou shalt be a captain over Israel. %%% Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wafulumya n'oyingiza Isiraeri: Mukama n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba mukulu wa Isiraeri. 10S2A005.003 So all the elders of Israel came to the king to Hebron; and king David made a league with them in Hebron before the LORD: and they anointed David king over Israel. %%% Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama: ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. 10S2A005.004 David was thirty years old when he began to reign, and he reigned forty years. %%% Dawudi yali yaakamaze emyaka asatu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka ana. 10S2A005.005 In Hebron he reigned over Judah seven years and six months: and in Jerusalem he reigned thirty and three years over all Israel and Judah. %%% Yafugira Yuda e Kebbulooni emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi yafugira Isiraeri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu. 10S2A005.006 And the king and his men went to Jerusalem unto the Jebusites, the inhabitants of the land: which spake unto David, saying, Except thou take away the blind and the lame, thou shalt not come in hither: thinking, David cannot come in hither. %%% Awo kabaka n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi, abaatuula mu nsi: abaagamba Dawudi nti Bw'otolimalawo bazibe ba maaso n'abawenyera, toliyingira muno: nga balowooza nti Dawudi tayinza kuyingira muno. 10S2A005.007 Nevertheless David took the strong hold of Zion: the same is the city of David. %%% Era naye Dawudi n'amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi. 10S2A005.008 And David said on that day, Whosoever getteth up to the gutter, and smiteth the Jebusites, and the lame and the blind, that are hated of David's soul, he shall be chief and captain. Wherefore they said, The blind and the lame shall not come into the house. %%% Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti Buli anatta Abayebusi, ayambuke awali olusalosalo atte abazibe b'amaaso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi b'ekyawa. Kyebaava boogera nti Waliwo abazibe b'amaaso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba. 10S2A005.009 So David dwelt in the fort, and called it the city of David. And David built round about from Millo and inward. %%% Dawudi n'abeera mu kigo n'akiyita ekibuga kya Dawudi. Era Dawudi yazimba okwetooloola okuva e Miro n'okuzza munda. 10S2A005.010 And David went on, and grew great, and the LORD God of hosts was with him. %%% Awo Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, yali naye. 10S2A005.011 And Hiram king of Tyre sent messengers to David, and cedar trees, and carpenters, and masons: and they built David an house. %%% Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka n'emivule n'ababazzi n'abazimbi b'amayinja; ne bazimbira Dawudi ennyumba. 10S2A005.012 And David perceived that the LORD had established him king over Israel, and that he had exalted his kingdom for his people Israel's sake. %%% Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Isiraeri. 10S2A005.013 And David took him more concubines and wives out of Jerusalem, after he was come from Hebron: and there were yet sons and daughters born to David. %%% Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni: Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 10S2A005.014 And these be the names of those that were born unto him in Jerusalem; Shammuah, and Shobab, and Nathan, and Solomon, %%% Era gano ge mannya g'abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu ne Nasani ne Sulemaani, 10S2A005.015 Ibhar also, and Elishua, and Nepheg, and Japhia, %%% ne Ibali ne Eriswa; ne Nefegi ne Yafiya; 10S2A005.016 And Elishama, and Eliada, and Eliphalet. %%% ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti. 10S2A005.017 But when the Philistines heard that they had anointed David king over Israel, all the Philistines came up to seek David; and David heard of it, and went down to the hold. %%% Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga bamaze okumufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; Dawudi n'akiwulira n'aserengeta mu mpuku. 10S2A005.018 The Philistines also came and spread themselves in the valley of Rephaim. %%% Awo Abafirisuuti baali bazze ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu. 10S2A005.019 And David enquired of the LORD, saying, Shall I go up to the Philistines? wilt thou deliver them into mine hand? And the LORD said unto David, Go up: for I will doubtless deliver the Philistines into thine hand. %%% Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti Nnyambuke eri Abafirisuuti? on'obagabula mu mukono gwange? Mukama n'agamba Dawudi nti Yambuka: kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo. 10S2A005.020 And David came to Baalperazim, and David smote them there, and said, The LORD hath broken forth upon mine enemies before me, as the breach of waters. Therefore he called the name of that place Baalperazim. %%% Dawudi n'ajja e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gamenya. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baalupera. 10S2A005.021 And there they left their images, and David and his men burned them. %%% Ne baleka eyo ebifaananyi byabwe, Dawudi n'abasajja be ne babitwala. 10S2A005.022 And the Philistines came up yet again, and spread themselves in the valley of Rephaim. %%% Awo Abafirisuuti ne beeyongera okwambuka olw'okubiri ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu. 10S2A005.023 And when David enquired of the LORD, he said, Thou shalt not go up; but fetch a compass behind them, and come upon them over against the mulberry trees. %%% Awo Dawudi bwe yabuuza Mukana n'ayogera nti Toyambuka: weetooloole ennyuma waabwe obafulume mu maaso g'emitugunda. 10S2A005.024 And let it be, when thou hearest the sound of a going in the tops of the mulberry trees, that then thou shalt bestir thyself: for then shall the LORD go out before thee, to smite the host of the Philistines. %%% Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g’emitugunda, n’olyoka ogolokoka: kubanga awo Mukama ng'akukulembedde okukuba eggye ly'Abafirisuuti. 10S2A005.025 And David did so, as the LORD had commanded him; and smote the Philistines from Geba until thou come to Gazer. %%% Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira; n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa lwe yatuuka e Gezeri. 10S2A006.001 Again, David gathered together all the chosen men of Israel, thirty thousand. %%% Awo Dawudi n'akuŋŋaanya nate abasajja bonna abalonde aba Isiraeri, obukumi busatu. 10S2A006.002 And David arose, and went with all the people that were with him from Baale of Judah, to bring up from thence the ark of God, whose name is called by the name of the LORD of hosts that dwelleth between the cherubims. %%% Sawudi n'agolokoka n'agenda n'abantu bonna abaali naye, okuva e Baale Yuda okuggyayo ssanduuko ya Katonda okugirinnyisa, eyitibwa Erinnya lyennyini, erinnya lya Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi. 10S2A006.003 And they set the ark of God upon a new cart, and brought it out of the house of Abinadab that was in Gibeah: and Uzzah and Ahio, the sons of Abinadab, drave the new cart. %%% Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi: Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya. 10S2A006.004 And they brought it out of the house of Abinadab which was at Gibeah, accompanying the ark of God: and Ahio went before the ark. %%% Ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi n'essanduuko ya Katonda: Akiyo n'akulembera ssanduuko. 10S2A006.005 And David and all the house of Israel played before the LORD on all manner of instruments made of fir wood, even on harps, and on psalteries, and on timbrels, and on cornets, and on cymbals. %%% Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne bakubira mu maaso ga Mukama ebintu eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli n'ebitaasa n'ensaasi n'ebisaala. 10S2A006.006 And when they came to Nachon's threshingfloor, Uzzah put forth his hand to the ark of God, and took hold of it; for the oxen shook it. %%% Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n'agolola omukono gwe ku ssanduuko ya Katonda n'agikwatako; kubanga ente yeesittala. 10S2A006.007 And the anger of the LORD was kindled against Uzzah; and God smote him there for his error; and there he died by the ark of God. %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali ssanduuko ya Katonda. 10S2A006.008 And David was displeased, because the LORD had made a breach upon Uzzah: and he called the name of the place Perezuzzah to this day. %%% Awo Dawudi n'anyiiga kuba Mukama awamatukidde Uzza: n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero. 10S2A006.009 And David was afraid of the LORD that day, and said, How shall the ark of the LORD come to me? %%% Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'ayogera nti Essanduuko ya Mukama erijja etya gye ndi? 10S2A006.010 So David would not remove the ark of the LORD unto him into the city of David: but David carried it aside into the house of Obededom the Gittite. %%% Awo Dawudi n'atayagala kujjulula ssanduuko ya Mukama okugireeta gy'ali, mu kibuga kya Dawudi; naye Dawudi n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 10S2A006.011 And the ark of the LORD continued in the house of Obededom the Gittite three months: and the LORD blessed Obededom, and all his household. %%% Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu Omugitti: Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna. 10S2A006.012 And it was told king David, saying, The LORD hath blessed the house of Obededom, and all that pertaineth unto him, because of the ark of God. So David went and brought up the ark of God from the house of Obededom into the city of David with gladness. %%% Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti Mukama awadde omukisa ennyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'essanduuko ya Katonda. Dawudi n'agenda n'aggya essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n'agirinnyisa mu kibuga kya Dawudi ng'asanyuka. 10S2A006.013 And it was so, that when they that bare the ark of the LORD had gone six paces, he sacrificed oxen and fatlings. %%% Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga, n'awaayo ente n'ekya ssava. 10S2A006.014 And David danced before the LORD with all his might; and David was girded with a linen ephod. %%% Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta. 10S2A006.015 So David and all the house of Israel brought up the ark of the LORD with shouting, and with the sound of the trumpet. %%% Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere. 10S2A006.016 And as the ark of the LORD came into the city of David, Michal Saul's daughter looked through a window, and saw king David leaping and dancing before the LORD; and she despised him in her heart. %%% Awo olwatuuka essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama; n'amunyooma mu mutima gwe. 10S2A006.017 And they brought in the ark of the LORD, and set it in his place, in the midst of the tabernacle that David had pitched for it: and David offered burnt offerings and peace offerings before the LORD. %%% Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde: Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama. 10S2A006.018 And as soon as David had made an end of offering burnt offerings and peace offerings, he blessed the people in the name of the LORD of hosts. %%% Awo Dawudi bwe yali amaze okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow'eggye. 10S2A006.019 And he dealt among all the people, even among the whole multitude of Israel, as well to the women as men, to every one a cake of bread, and a good piece of flesh, and a flagon of wine. So all the people departed every one to his house. %%% N'agabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isiraeri, abasajja n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. Awo abantu bonna ne baddayo buli muntu mu nnyumba ye. 10S2A006.020 Then David returned to bless his household. And Michal the daughter of Saul came out to meet David, and said, How glorious was the king of Israel to day, who uncovered himself to day in the eyes of the handmaids of his servants, as one of the vain fellows shamelessly uncovereth himself! %%% Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi! 10S2A006.021 And David said unto Michal, It was before the LORD, which chose me before thy father, and before all his house, to appoint me ruler over the people of the LORD, over Israel: therefore will I play before the LORD. %%% Dawudi n'agamba Mikali nti Kyabadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri: kyennaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama. 10S2A006.022 And I will yet be more vile than thus, and will be base in mine own sight: and of the maidservants which thou hast spoken of, of them shall I be had in honour. %%% Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era naabanga anyoomebwa mu maaso gange nze: naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa. 10S2A006.023 Therefore Michal the daughter of Saul had no child unto the day of her death. %%% Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusa ku lunaku kwe yafiira. 10S2A007.001 And it came to pass, when the king sat in his house, and the LORD had given him rest round about from all his enemies; %%% Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola, 10S2A007.002 That the king said unto Nathan the prophet, See now, I dwell in an house of cedar, but the ark of God dwelleth within curtains. %%% awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti Laba nno, nze ntuula mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ya Katonda etuula munda w'ebitimbe. 10S2A007.003 And Nathan said to the king, Go, do all that is in thine heart; for the LORD is with thee. %%% Awo Nasani n'agamba kabaka nti Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe. 10S2A007.004 And it came to pass that night, that the word of the LORD came unto Nathan, saying, %%% Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti 10S2A007.005 Go and tell my servant David, Thus saith the LORD, Shalt thou build me an house for me to dwell in? %%% Genda obuulire omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ggwe olinzimbira ennyumba gye mba mbeeramu? 10S2A007.006 Whereas I have not dwelt in any house since the time that I brought up the children of Israel out of Egypt, even to this day, but have walked in a tent and in a tabernacle. %%% kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnaggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, ne leero, naye natambuliranga mu weema ne mu nnyumba entimbe. 10S2A007.007 In all the places wherein I have walked with all the children of Israel spake I a word with any of the tribes of Israel, whom I commanded to feed my people Israel, saying, Why build ye not me an house of cedar? %%% Mu bifo byonna mwe nnatambulira n'abaana ba Isiraeri bonna, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nnalagira okulunda abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule? 10S2A007.008 Now therefore so shalt thou say unto my servant David, Thus saith the LORD of hosts, I took thee from the sheepcote, from following the sheep, to be ruler over my people, over Israel: %%% Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri: 10S2A007.009 And I was with thee whithersoever thou wentest, and have cut off all thine enemies out of thy sight, and have made thee a great name, like unto the name of the great men that are in the earth. %%% era nabanga naawe buii gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi. 10S2A007.010 Moreover I will appoint a place for my people Israel, and will plant them, that they may dwell in a place of their own, and move no more; neither shall the children of wickedness afflict them any more, as beforetime, %%% Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye, 10S2A007.011 And as since the time that I commanded judges to be over my people Israel, and have caused thee to rest from all thine enemies. Also the LORD telleth thee that he will make thee an house. %%% era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era nate Mukama akubuulira nga Mukama alikukolera ennyumba. 10S2A007.012 And when thy days be fulfilled, and thou shalt sleep with thy fathers, I will set up thy seed after thee, which shall proceed out of thy bowels, and I will establish his kingdom. %%% Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo ezzadde lyo eririddawo eririva munda yo, era ndinyweza obwakabaka bwe. 10S2A007.013 He shall build an house for my name, and I will stablish the throne of his kingdom for ever. %%% Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna. 10S2A007.014 I will be his father, and he shall be my son. If he commit iniquity, I will chasten him with the rod of men, and with the stripes of the children of men: %%% Nze ndiba kitaawe naye aliba mwana wange: bw'anaabanga ng'akoze ekitali kya butuukirivu, naamukangavvulanga n'omuggo ogw'abantu n'enga ez'abaana b'abantu; 10S2A007.015 But my mercy shall not depart away from him, as I took it from Saul, whom I put away before thee. %%% naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go: 10S2A007.016 And thine house and thy kingdom shall be established for ever before thee: thy throne shall be established for ever. %%% N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go: entebe yo erinywezebwa ennaku zonna. 10S2A007.017 According to all these words, and according to all this vision, so did Nathan speak unto David. %%% Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabuulira Dawudi. 10S2A007.018 Then went king David in, and sat before the LORD, and he said, Who am I, O Lord GOD? and what is my house, that thou hast brought me hitherto? %%% Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti Nze ani, ai Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano? 10S2A007.019 And this was yet a small thing in thy sight, O Lord GOD; but thou hast spoken also of thy servant's house for a great while to come. And is this the manner of man, O Lord GOD? %%% N'ekyo ne kiba nga kikyali kigambo kitono mu maaso go, ai Mukama Katonda; era naye oyogedde ku nnyumba y'omuddu wo okumala ebiro bingi ebiribaawo; n'ekyo ng'engeri y'abantu bw'eri, ai Mukama Katonda! 10S2A007.020 And what can David say more unto thee? for thou, Lord GOD, knowest thy servant. %%% Era kiki Dawudi ky'ayinza okukugamba nate? kubanga omanyi omuddu wo, ai Mukama Katonda. 10S2A007.021 For thy word's sake, and according to thine own heart, hast thou done all these great things, to make thy servant know them. %%% Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, okutegeeza omuddu wo. 10S2A007.022 Wherefore thou art great, O LORD God: for there is none like thee, neither is there any God beside thee, according to all that we have heard with our ears. %%% Ky'obeeredde omukulu, ai Mukama Katonda: kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe. 10S2A007.023 And what one nation in the earth is like thy people, even like Israel, whom God went to redeem for a people to himself, and to make him a name, and to do for you great things and terrible, for thy land, before thy people, which thou redeemedst to thee from Egypt, from the nations and their gods? %%% Era ggwanga ki erimu mu nsi erifaanana abantu bo, erifaanana Isiraeri, Katonda be yagenderera okwenunulira okuba abantu be, n'okwekolera erinnya, n'okubakolera ebikulu, n'okukolera ensi yo eby'entiisa, mu maaso g'abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri, okubaggya mu mawanga ne bakatonda baabwe? 10S2A007.024 For thou hast confirmed to thyself thy people Israel to be a people unto thee for ever: and thou, LORD, art become their God. %%% Ne weenywereza abantu bo Isiraeri okuba abantu gy'oli ennaku zonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe. 10S2A007.025 And now, O LORD God, the word that thou hast spoken concerning thy servant, and concerning his house, establish it for ever, and do as thou hast said. %%% Era kaakano, ai Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde. 10S2A007.026 And let thy name be magnified for ever, saying, The LORD of hosts is the God over Israel: and let the house of thy servant David be established before thee. %%% Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri: n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go. 10S2A007.027 For thou, O LORD of hosts, God of Israel, hast revealed to thy servant, saying, I will build thee an house: therefore hath thy servant found in his heart to pray this prayer unto thee. %%% Kubanga ggwe, ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti Ndikuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okukusaba okusaba kuno. 10S2A007.028 And now, O Lord GOD, thou art that God, and thy words be true, and thou hast promised this goodness unto thy servant: %%% Era nno, ai Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi 10S2A007.029 Therefore now let it please thee to bless the house of thy servant, that it may continue for ever before thee: for thou, O Lord GOD, hast spoken it: and with thy blessing let the house of thy servant be blessed for ever. %%% kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna: kubanga ggwe, ai Mukama Katonda, okyogedde: era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna. 10S2A008.001 And after this it came to pass that David smote the Philistines, and subdued them: and David took Methegammah out of the hand of the Philistines. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula: Dawudi n'aggyayo olukoba lw'ekibuga nnyina w'ensi mu mukono gw'Abafirisuuti. 10S2A008.002 And he smote Moab, and measured them with a line, casting them down to the ground; even with two lines measured he to put to death, and with one full line to keep alive. And so the Moabites became David's servants, and brought gifts. %%% N'akuba Mowaabu, n'abagera n'omugwa, ng'abagalamiza wansi; n'agerako emigwa ebiri egy'okutta n'omugwa ogumu omulamba ogw'okuwonya abalamu. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleeta ebirabo. 10S2A008.003 David smote also Hadadezer, the son of Rehob, king of Zobah, as he went to recover his border at the river Euphrates. %%% Era Dawudi n'akuba ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yagenda okujeemulula amatwale ge ku Mugga. 10S2A008.004 And David took from him a thousand chariots, and seven hundred horsemen, and twenty thousand footmen: and David houghed all the chariot horses, but reserved of them for an hundred chariots. %%% Dawudi n'amuggyako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n'azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi. 10S2A008.005 And when the Syrians of Damascus came to succour Hadadezer king of Zobah, David slew of the Syrians two and twenty thousand men. %%% Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri. 10S2A008.006 Then David put garrisons in Syria of Damascus: and the Syrians became servants to David, and brought gifts. And the LORD preserved David whithersoever he went. %%% Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko: Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. 10S2A008.007 And David took the shields of gold that were on the servants of Hadadezer, and brought them to Jerusalem. %%% Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi. 10S2A008.008 And from Betah, and from Berothai, cities of Hadadezer, king David took exceeding much brass. %%% Ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, kabaka Dawudi n'aggyamu ebikomo ebyayingirira obungi. 10S2A008.009 When Toi king of Hamath heard that David had smitten all the host of Hadadezer, %%% Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri, 10S2A008.010 Then Toi sent Joram his son unto king David, to salute him, and to bless him, because he had fought against Hadadezer, and smitten him: for Hadadezer had wars with Toi. And Joram brought with him vessels of silver, and vessels of gold, and vessels of brass: %%% awo Toyi n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amukuba: kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta wamu naye ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo: 10S2A008.011 Which also king David did dedicate unto the LORD, with the silver and gold that he had dedicated of all nations which he subdued; %%% n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gye yawonga gye yaggya ku mawanga gonna ge yawangula; 10S2A008.012 Of Syria, and of Moab, and of the children of Ammon, and of the Philistines, and of Amalek, and of the spoil of Hadadezer, son of Rehob, king of Zobah. %%% ku Busuuli ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba. 10S2A008.013 And David gat him a name when he returned from smiting of the Syrians in the valley of salt, being eighteen thousand men. %%% Dawudi ne yeefunira erinnya bwe yakomawo ng'amaze okukuba Abasuuli mu Kiwonvu eky'Omunnyo, abasajja kakumi mu kanaana. 10S2A008.014 And he put garrisons in Edom; throughout all Edom put he garrisons, and all they of Edom became David's servants. And the LORD preserved David whithersoever he went. %%% N'ateeka ebigo mu Edomu; yateeka ebigo okubuna Edomu, Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. 10S2A008.015 And David reigned over all Israel; and David executed judgment and justice unto all his people. %%% Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna: Dawudi n'asalira abantu be bonna emisango gya nsonga era gya mazima. 10S2A008.016 And Joab the son of Zeruiah was over the host; and Jehoshaphat the son of Ahilud was recorder; %%% Ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosaffaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza: 10S2A008.017 And Zadok the son of Ahitub, and Ahimelech the son of Abiathar, were the priests; and Seraiah was the scribe; %%% ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Seroya ye yali omuwandiisi; 10S2A008.018 And Benaiah the son of Jehoiada was over both the Cherethites and the Pelethites; and David's sons were chief rulers. %%% ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu. 10S2A009.001 And David said, Is there yet any that is left of the house of Saul, that I may shew him kindness for Jonathan's sake? %%% Dawudi n'ayogera nti Wakyaliwo asigaddewo ku nnyumba ya Sawulo, mmukole eby'ekisa ku lwa Yonasaani? 10S2A009.002 And there was of the house of Saul a servant whose name was Ziba. And when they had called him unto David, the king said unto him, Art thou Ziba? And he said, Thy servant is he. %%% Awo waaliwo ku nnyumba ya Sawulo omuddu erinnya lye Ziba, ne bamuyita eri Dawudi; kabaka n'amugamba nti Ggwe Ziba? N'ayogera nti Omuddu wo ye wuuyo. 10S2A009.003 And the king said, Is there not yet any of the house of Saul, that I may shew the kindness of God unto him? And Ziba said unto the king, Jonathan hath yet a son, which is lame on his feet. %%% Kabaka n'ayogera nti Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukole eby'ekisa kya Katonda? Ziba n'agamba kabaka nti Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere. 10S2A009.004 And the king said unto him, Where is he? And Ziba said unto the king, Behold, he is in the house of Machir, the son of Ammiel, in Lodebar. %%% Kabaka n'amugamba nti Ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali. 10S2A009.005 Then king David sent, and fetched him out of the house of Machir, the son of Ammiel, from Lodebar. %%% Awo kabaka Dawudi n'atuma n'amuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali. 10S2A009.006 Now when Mephibosheth, the son of Jonathan, the son of Saul, was come unto David, he fell on his face, and did reverence. And David said, Mephibosheth. And he answered, Behold thy servant! %%% Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'ayogera nti Mefibosesi. N'addamu nti Laba omuddu wo. 10S2A009.007 And David said unto him, Fear not: for I will surely shew thee kindness for Jonathan thy father's sake, and will restore thee all the land of Saul thy father; and thou shalt eat bread at my table continually. %%% Dawudi n'amugamba nti Totya: kubanga siireme kukukola bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna. 10S2A009.008 And he bowed himself, and said, What is thy servant, that thou shouldest look upon such a dead dog as I am? %%% Ne yeeyanza n'ayogera nti Omuddu wo ye ani ggwe okutunuulira embwa enfu nga nze bwe ndi? 10S2A009.009 Then the king called to Ziba, Saul's servant, and said unto him, I have given unto thy master's son all that pertained to Saul and to all his house. %%% Awo kabaka n'ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n'amugamba nti Byonna ebyabanga ebya Sawulo n'eby'ennyumba ye yonna mbiwadde omwana wa mukama wo. 10S2A009.010 Thou therefore, and thy sons, and thy servants, shall till the land for him, and thou shalt bring in the fruits, that thy master's son may have food to eat: but Mephibosheth thy master's son shall eat bread alway at my table. Now Ziba had fifteen sons and twenty servants. %%% Naawe onoomulimiranga ettaka, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga: naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange. Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano n'abaddu amakumi abiri. 10S2A009.011 Then said Ziba unto the king, According to all that my lord the king hath commanded his servant, so shall thy servant do. As for Mephibosheth, said the king, he shall eat at my table, as one of the king's sons. %%% Awo Ziba n'agamba kabaka nti Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga. Mefibosesi, bwe yayogera kabaka, anaalyanga ku mmeeza yange ng'omu ku baana ba kabaka. 10S2A009.012 And Mephibosheth had a young son, whose name was Micha. And all that dwelt in the house of Ziba were servants unto Mephibosheth. %%% Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi. 10S2A009.013 So Mephibosheth dwelt in Jerusalem: for he did eat continually at the king's table; and was lame on both his feet. %%% Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi: kubanga yalyanga bulijjo ku mmeeza ya kabaka; era yalemala ebigere bye byombi. 10S2A010.001 And it came to pass after this, that the king of the children of Ammon died, and Hanun his son reigned in his stead. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, Kanuni mutabani we n'afuga mu kifo kye. 10S2A010.002 Then said David, I will shew kindness unto Hanun the son of Nahash, as his father shewed kindness unto me. And David sent to comfort him by the hand of his servants for his father. And David's servants came into the land of the children of Ammon. %%% Dawudi n'ayogera nti Naakola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankola eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni. 10S2A010.003 And the princes of the children of Ammon said unto Hanun their lord, Thinkest thou that David doth honour thy father, that he hath sent comforters unto thee? hath not David rather sent his servants unto thee, to search the city, and to spy it out, and to overthrow it? %%% Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya? 10S2A010.004 Wherefore Hanun took David's servants, and shaved off the one half of their beards, and cut off their garments in the middle, even to their buttocks, and sent them away. %%% Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika. 10S2A010.005 When they told it unto David, he sent to meet them, because the men were greatly ashamed: and the king said, Tarry at Jericho until your beards be grown, and then return. %%% Awo bwe baakibuulira Dawudi, n'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja abo ne bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula, mulyoke mukomewo. 10S2A010.006 And when the children of Ammon saw that they stank before David, the children of Ammon sent and hired the Syrians of Bethrehob, and the Syrians of Zoba, twenty thousand footmen, and of king Maacah a thousand men, and of Ishtob twelve thousand men. %%% Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Dawudi ng'abatamiddwa, abaana ba Amoni ne batuma ne bagulirira Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere obukumi bubiri, ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi, n'abasajja ab'e Tobu abasajja kakumi mu enkumi bbiri. 10S2A010.007 And when David heard of it, he sent Joab, and all the host of the mighty men. %%% Awo Dawudi bwe yakiwulira, n'atuma Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. 10S2A010.008 And the children of Ammon came out, and put the battle in array at the entering in of the gate: and the Syrians of Zoba, and of Rehob, and Ishtob, and Maacah, were by themselves in the field. %%% Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango: n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale. 10S2A010.009 When Joab saw that the front of the battle was against him before and behind, he chose of all the choice men of Israel, and put them in array against the Syrians: %%% Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'ennyuma we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli: 10S2A010.010 And the rest of the people he delivered into the hand of Abishai his brother, that he might put them in array against the children of Ammon. %%% abantu bonna abalala n'abakwasa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, n'abasimba ennyiriri okwolekera abaana ba Amoni. 10S2A010.011 And he said, If the Syrians be too strong for me, then thou shalt help me: but if the children of Ammon be too strong for thee, then I will come and help thee. %%% N'ayogera nti Abasuuli bwe banannema, kale ggwe onombeera: naye abaana ba Amoni bwe banaakulema, kale najja ne nkuyamba. 10S2A010.012 Be of good courage, and let us play the men for our people, and for the cities of our God: and the LORD do that which seemeth him good. %%% Ddamu amaanyi twerage obusajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole nga bw'asiima. 10S2A010.013 And Joab drew nigh, and the people that were with him, unto the battle against the Syrians: and they fled before him. %%% Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli: ne badduka mu maaso ge. 10S2A010.014 And when the children of Ammon saw that the Syrians were fled, then fled they also before Abishai, and entered into the city. So Joab returned from the children of Ammon, and came to Jerusalem. %%% Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n' alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo n'ajja e Yerusaalemi. 10S2A010.015 And when the Syrians saw that they were smitten before Israel, they gathered themselves together. %%% Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne bakuŋŋaana. 10S2A010.016 And Hadarezer sent, and brought out the Syrians that were beyond the river: and they came to Helam; and Shobach the captain of the host of Hadarezer went before them. %%% Awo Kadadezeri n'atuma n'aggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga: ne bajja e Keramu, Sobaki omukulu w'eggye lya Kadadezeri ng'abakulembedde. 10S2A010.017 And when it was told David, he gathered all Israel together, and passed over Jordan, and came to Helam. And the Syrians set themselves in array against David, and fought with him. %%% Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, n'asomoka Yoludaani n'ajja e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi ne balwana naye. 10S2A010.018 And the Syrians fled before Israel; and David slew the men of seven hundred chariots of the Syrians, and forty thousand horsemen, and smote Shobach the captain of their host, who died there. %%% Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu, n'abeebagala embalaasi obukumi buna, n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo. 10S2A010.019 And when all the kings that were servants to Hadarezer saw that they were smitten before Israel, they made peace with Israel, and served them. So the Syrians feared to help the children of Ammon any more. %%% Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni. 10S2A011.001 And it came to pass, after the year was expired, at the time when kings go forth to battle, that David sent Joab, and his servants with him, and all Israel; and they destroyed the children of Ammon, and besieged Rabbah. But David tarried still at Jerusalem. %%% Awo olwatuuka omwaka bwe gwatuukirira mu kiseera bakabaka mwe batabaalira, Dawudi n'atuma Yowaabu n'abaddu be awamu naye ne Isiraeri yenna; ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. 10S2A011.002 And it came to pass in an eveningtide, that David arose from off his bed, and walked upon the roof of the king's house: and from the roof he saw a woman washing herself; and the woman was very beautiful to look upon. %%% Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka: era ng'ayima ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira. 10S2A011.003 And David sent and enquired after the woman. And one said, Is not this Bathsheba, the daughter of Eliam, the wife of Uriah the Hittite? %%% Awo Dawudi n'atuma n'abuuza omukazi bw'ali. Ne wabaawo eyayogera nti Oyo si Basuseba muwala wa Eriyaamu, mukazi wa Uliya Omukiiti? 10S2A011.004 And David sent messengers, and took her; and she came in unto him, and he lay with her; for she was purified from her uncleanness: and she returned unto her house. %%% Awo Dawudi n'atuma ababaka n'amutwala; n'ayingira gy'ali n'asula naye; (kubanga yali alongoosebwa obutali bulongoofu bwe;) omukazi n'addayo mu nuyumba ye. 10S2A011.005 And the woman conceived, and sent and told David, and said, I am with child. %%% Omukazi n'aba olubuuto; n'atuma n'abuulira Dawudi n'ayogera nti Ndi lubuto. 10S2A011.006 And David sent to Joab, saying, Send me Uriah the Hittite. And Joab sent Uriah to David. %%% Dawudi n'atumira Yowaabu nti Mpeereza Uliya Omukiiti. Yowaabu n'aweereza Uliya eri Dawudi. 10S2A011.007 And when Uriah was come unto him, David demanded of him how Joab did, and how the people did, and how the war prospered. %%% Awo Uliya bwe yajja gy'ali, Dawudi n'amubuuza Yowaabu bwe yali n'abantu bwe baali n'olutalo bwe lwali. 10S2A011.008 And David said to Uriah, Go down to thy house, and wash thy feet. And Uriah departed out of the king's house, and there followed him a mess of meat from the king. %%% Dawudi n'agamba Uliya nti Serengeta mu nnyumba yo onaabe ebigere. Uliya n'ava mu nnyumba ya kabaka, ne wamugoberera omuwumbo (gw'emmere) oguvudde eri kabaka. 10S2A011.009 But Uriah slept at the door of the king's house with all the servants of his lord, and went not down to his house. %%% Naye Uliya n'asula ku mulyango gw'ennyumba ya kabaka wamu n'abaddu bonna aba mukama we, n'ataserengeta mu nnyumba ye. 10S2A011.010 And when they had told David, saying, Uriah went not down unto his house, David said unto Uriah, Camest thou not from thy journey? why then didst thou not go down unto thine house? %%% Awo bwe baamubuulira Dawudi nti Uliya teyaserengese mu nnyumba ye, Dawudi n'agamba Uliya nti Tovudde mu lugendo? kiki ekyakulobedde okuserengeta mu nnyumba yo? 10S2A011.011 And Uriah said unto David, The ark, and Israel, and Judah, abide in tents; and my lord Joab, and the servants of my lord, are encamped in the open fields; shall I then go into mine house, to eat and to drink, and to lie with my wife? as thou livest, and as thy soul liveth, I will not do this thing. %%% Uliya n'agamba Dawudi nti Essanduuko ne Isiraeri ne Yuda basula mu nsiisira; ne mukama wange Yowaabu n'abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale mu bbanga; nze nno naagenda mu nnyumba yange okulya n'okunywa n'okusula ne mukazi wange? nga bw'oli omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu sijja kukola kigambo ekyo. 10S2A011.012 And David said to Uriah, Tarry here to day also, and to morrow I will let thee depart. So Uriah abode in Jerusalem that day, and the morrow. %%% Awo Dawudi n'agamba Uliya nti Mala wano n'olwa leero, enkya nkusindike. Awo Uliya n'amala olunaku olwo n'olw'enkya mu Yerusaalemi. 10S2A011.013 And when David had called him, he did eat and drink before him; and he made him drunk: and at even he went out to lie on his bed with the servants of his lord, but went not down to his house. %%% Awo Dawudi bwe yamuyita n'alya n'anywera mu maaso ge; n'amutamiiza: awo akawungeezi n'afuluma okusula ku kitanda kye wamu n'abaddu ba mukama we, naye n'ataserengeta mu nnyumba ye. 10S2A011.014 And it came to pass in the morning, that David wrote a letter to Joab, and sent it by the hand of Uriah. %%% Awo olwatuuka enkya Dawudi n'awandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiweerereza mu mukono gwa Uliya. 10S2A011.015 And he wrote in the letter, saying, Set ye Uriah in the forefront of the hottest battle, and retire ye from him, that he may be smitten, and die. %%% N'awandiika mu bbaluwa nti Muteeke Uliya mu maaso awali olutalo olw'amaanyi; mumwabulire, balyoke bamufumite afe: 10S2A011.016 And it came to pass, when Joab observed the city, that he assigned Uriah unto a place where he knew that valiant men were. %%% Awo olwatuuka Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'awa Uliya ekifo we yamanya nga we wali abazira. 10S2A011.017 And the men of the city went out, and fought with Joab: and there fell some of the people of the servants of David; and Uriah the Hittite died also. %%% Abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwana ne Yowaabu: awo ku bantu ne kufaako abamu, ku baddu ba Dawudi; Uliya Omukiiti naye n'afa. 10S2A011.018 Then Joab sent and told David all the things concerning the war; %%% Awo Yowaabu n'atuma n'abuulira Dawudi eby'olutalo byonna; 10S2A011.019 And charged the messenger, saying, When thou hast made an end of telling the matters of the war unto the king, %%% n'akuutira omubaka ng'ayogera nti Bw'oliba ng'omaze okubuulira kabaka eby'olutalo byonna, 10S2A011.020 And if so be that the king's wrath arise, and he say unto thee, Wherefore approached ye so nigh unto the city when ye did fight? knew ye not that they would shoot from the wall? %%% awo alunaatuuka kabaka bw'anaasunguwala, n'akugamba nti Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi: n'ekibuga okulwana? temwamanya nga baliyima ku bbugwe okulasa: 10S2A011.021 Who smote Abimelech the son of Jerubbesheth? did not a woman cast a piece of a millstone upon him from the wall, that he died in Thebez? why went ye nigh the wall? then say thou, Thy servant Uriah the Hittite is dead also. %%% ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? omukazi teyamukasukako enso ng'ayima ku bbugwe n'afiira e Sebezi? kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi ne bbugwe? awo onooyogera nti N'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde. 10S2A011.022 So the messenger went, and came and shewed David all that Joab had sent him for. %%% Awo omubaka n'agenda n'ajja n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma. 10S2A011.023 And the messenger said unto David, Surely the men prevailed against us, and came out unto us into the field, and we were upon them even unto the entering of the gate. %%% Omubaka n'agamba Dawudi nti Abasajja baatuyiwako amaanyi ne batulumba ebweru mu bbanga, ne tufunvubira nabo okutuusa awayingirirwa mu mulyango. 10S2A011.024 And the shooters shot from off the wall upon thy servants; and some of the king's servants be dead, and thy servant Uriah the Hittite is dead also. %%% Abalasi ne balasa abaddu bo nga bayima ku bbugwe; era ku baddu ba kabaka kufuddeko abamu, n'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde. 10S2A011.025 Then David said unto the messenger, Thus shalt thou say unto Joab, Let not this thing displease thee, for the sword devoureth one as well as another: make thy battle more strong against the city, and overthrow it: and encourage thou him. %%% Awo Dawudi n'agamba omubaka nti Bw'otyo bw'oba ogamba Yowaabu nti Ekigambo ekyo kireme okukunyiiza, kubanga ekitala kirya nga kyenkanya omuntu ne munne: weeyongere okunyweza olutalo lwo okulwana n'ekibuga okimenye: era omugumyanga omwoyo. 10S2A011.026 And when the wife of Uriah heard that Uriah her husband was dead, she mourned for her husband. %%% Awo muka Uliya bwe yawulira bba ng'afudde n'akungubagira bba we. 10S2A011.027 And when the mourning was past, David sent and fetched her to his house, and she became his wife, and bare him a son. But the thing that David had done displeased the LORD. %%% Awo bwe yamala okwabya olumbe, Dawudi n'atuma n'amuleeta ewuwe, n'aba mukazi we n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Naye ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama. 10S2A012.001 And the LORD sent Nathan unto David. And he came unto him, and said unto him, There were two men in one city; the one rich, and the other poor. %%% Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'ajja gy'ali n'amugamba nti Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga ne munne nga mwavu. 10S2A012.002 The rich man had exceeding many flocks and herds: %%% Omugagga yalina endiga n'ente nnyingi nnyo nnyini: 10S2A012.003 But the poor man had nothing, save one little ewe lamb, which he had bought and nourished up: and it grew up together with him, and with his children; it did eat of his own meat, and drank of his own cup, and lay in his bosom, and was unto him as a daughter. %%% naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalera: ne kakulira wamu naye n'abaana be; kaalyanga ku kamere ke ye, ne kanywa ku ndeku ye ye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we. 10S2A012.004 And there came a traveller unto the rich man, and he spared to take of his own flock and of his own herd, to dress for the wayfaring man that was come unto him; but took the poor man's lamb, and dressed it for the man that was come to him. %%% Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali. 10S2A012.005 And David's anger was greatly kindled against the man; and he said to Nathan, As the LORD liveth, the man that hath done this thing shall surely die: %%% Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa: 10S2A012.006 And he shall restore the lamb fourfold, because he did this thing, and because he had no pity. %%% era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena, kubanga yakola ekyo, era kubanga teyalina kusaasira. 10S2A012.007 And Nathan said to David, Thou art the man. Thus saith the LORD God of Israel, I anointed thee king over Israel, and I delivered thee out of the hand of Saul; %%% Awo Nasani n'agamba Dawudi nti Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo; 10S2A012.008 And I gave thee thy master's house, and thy master's wives into thy bosom, and gave thee the house of Israel and of Judah; and if that had been too little, I would moreover have given unto thee such and such things. %%% ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa bibadde bitono, nandikwongeddeko bino na bino. 10S2A012.009 Wherefore hast thou despised the commandment of the LORD, to do evil in his sight? thou hast killed Uriah the Hittite with the sword, and hast taken his wife to be thy wife, and hast slain him with the sword of the children of Ammon. %%% Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? osse Uliya Omukiiti n'ekitala n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, n'omutta n'ekitala eky'abaana ba Amoni. 10S2A012.010 Now therefore the sword shall never depart from thine house; because thou hast despised me, and hast taken the wife of Uriah the Hittite to be thy wife. %%% Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo. 10S2A012.011 Thus saith the LORD, Behold, I will raise up evil against thee out of thine own house, and I will take thy wives before thine eyes, and give them unto thy neighbour, and he shall lie with thy wives in the sight of this sun. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazibo mu maaso go ne mbawa muliiraanwa wo, era alisula ne bakazi bo mu maaso g'enjuba eno. 10S2A012.012 For thou didst it secretly: but I will do this thing before all Israel, and before the sun. %%% Kubanga ggwe wakikola mu kyama: naye nze ndikola ekigambo ekyo mu maaso ga Isiraeri yenna ne mu maaso g'enjuba. 10S2A012.013 And David said unto Nathan, I have sinned against the LORD. And Nathan said unto David, The LORD also hath put away thy sin; thou shalt not die. %%% Awo Dawudi n'agamba Nasani nti Nnyonoonye Mukama. Nasani n'agamba Dawudi nti Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe. 10S2A012.014 Howbeit, because by this deed thou hast given great occasion to the enemies of the LORD to blaspheme, the child also that is born unto thee shall surely die. %%% Naye kubanga owadde abalabe ba Mukama ebbanga ddene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa talirema kufa naye. 10S2A012.015 And Nathan departed unto his house. And the LORD struck the child that Uriah's wife bare unto David, and it was very sick. %%% Awo Nasani ne yeddirayo mu nnyumba ye. Awo Mukama n'alwaza omwana muka Uliya gwe yazaalira Dawudi, n'alwala nnyo. 10S2A012.016 David therefore besought God for the child; and David fasted, and went in, and lay all night upon the earth. %%% Dawudi kyeyava amwegayiririra omwana eri Katonda; Dawudi n'asiiba n'ayingira n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde. 10S2A012.017 And the elders of his house arose, and went to him, to raise him up from the earth: but he would not, neither did he eat bread with them. %%% Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bagolokoka (ne bayimirira) w'ali, okumuyimusa okuva wansi: naye n'atakkiriza so teyalya mmere nabo. 10S2A012.018 And it came to pass on the seventh day, that the child died. And the servants of David feared to tell him that the child was dead: for they said, Behold, while the child was yet alive, we spake unto him, and he would not hearken unto our voice: how will he then vex himself, if we tell him that the child is dead? %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde: kubanga baayogera nti Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe: kale aneeraliikirira atya bwe tunaamubuulira omwana ng'afudde? 10S2A012.019 But when David saw that his servants whispered, David perceived that the child was dead: therefore David said unto his servants, Is the child dead? And they said, He is dead. %%% Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde: Dawudi n'agamba abaddu be nti Omwana afudde? Ne boogera nti Afudde. 10S2A012.020 Then David arose from the earth, and washed, and anointed himself, and changed his apparel, and came into the house of the LORD, and worshipped: then he came to his own house; and when he required, they set bread before him, and he did eat. %%% Awo Dawudi n'ava wansi n'agolokoka n'anaaba n'asaaba amafuta n'awaanyisa ebyambalo bye; n'ajja mu nnyumba ya Mukama n'asinza: n'alyoka ajja mu nnyumba ye; awo bwe yayagala ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya. 10S2A012.021 Then said his servants unto him, What thing is this that thou hast done? thou didst fast and weep for the child, while it was alive; but when the child was dead, thou didst rise and eat bread. %%% Awo abaddu be ne bamugamba nti Kigambo ki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere. 10S2A012.022 And he said, While the child was yet alive, I fasted and wept: for I said, Who can tell whether GOD will be gracious to me, that the child may live? %%% N'agamba nti Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba: kubanga nayogera nti Ani amanyi oba nga Mukama tankwatirwe kisa omwana abe omulamu. 10S2A012.023 But now he is dead, wherefore should I fast? can I bring him back again? I shall go to him, but he shall not return to me. %%% Naye kaakano ng'amaze okufa, nandisiibidde ki? nnyinza okumukomyawo? nze ndigenda gy'ali naye ye talikomawo gye ndi. 10S2A012.024 And David comforted Bathsheba his wife, and went in unto her, and lay with her: and she bare a son, and he called his name Solomon: and the LORD loved him. %%% Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye: n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala; 10S2A012.025 And he sent by the hand of Nathan the prophet; and he called his name Jedidiah, because of the LORD. %%% Mukama n'atuma mu mukono gwa Nasani nnabbi, n'amutuuma erinnya lye Yedidiya, ku lwa Mukama. 10S2A012.026 And Joab fought against Rabbah of the children of Ammon, and took the royal city. %%% Awo Yowaabu n'alwana ne Labba eky'abaana ba Amoni n'amenya ekibuga kya kabaka. 10S2A012.027 And Joab sent messengers to David, and said, I have fought against Rabbah, and have taken the city of waters. %%% Awo Yowaabu n'atumira Dawudi ababaka n'ayogera nti Nnwanye ne Labba, n'okumenya mmenye ekibuga eky'amazzi. 10S2A012.028 Now therefore gather the rest of the people together, and encamp against the city, and take it: lest I take the city, and it be called after my name. %%% Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye: nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange. 10S2A012.029 And David gathered all the people together, and went to Rabbah, and fought against it, and took it. %%% Dawudi n'akuŋŋaanya abantu bonna n'agenda e Labba, n'alwana nakyo n'akimenya. 10S2A012.030 And he took their king's crown from off his head, the weight whereof was a talent of gold with the precious stones: and it was set on David's head. And he brought forth the spoil of the city in great abundance. %%% N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. N'aggyamu omunyago ogw'ekibuga, mungi nnyo nnyini. 10S2A012.031 And he brought forth the people that were therein, and put them under saws, and under harrows of iron, and under axes of iron, and made them pass through the brick-kiln: and thus did he unto all the cities of the children of Ammon. So David and all the people returned unto Jerusalem. %%% N'aggyamu abantu abaali omwo, n'abassa wansi w'emisomeeno n'amannyo ag'ekyuma n'embazzi ez'ekyuma, n'abayisa mu kyokero ky'amatoffaali: awo bw'atyo bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi. 10S2A013.001 And it came to pass after this, that Absalom the son of David had a fair sister, whose name was Tamar; and Amnon the son of David loved her. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwagala. 10S2A013.002 And Amnon was so vexed, that he fell sick for his sister Tamar; for she was a virgin; and Amnon thought it hard for him to do anything to her. %%% Awo Amunoni ne yeeraliikirira bw'atyo n'okulwala n'alwala olwa mwannyina Tamali; kubanga yali tannamanya musajja; Amunoni n'akirowooza nga kizubu okumukola ekigambo kyonna. 10S2A013.003 But Amnon had a friend, whose name was Jonadab, the son of Shimeah David's brother: and Jonadab was a very subtil man. %%% Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi: era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo. 10S2A013.004 And he said unto him, Why art thou, being the king's son, lean from day to day? wilt thou not tell me? And Amnon said unto him, I love Tamar, my brother Absalom's sister. %%% N'amugamba nti Ekikukozza bw'otyo bulijjo bulijjo kiki, ggwe omwana wa kabaka? tombuulire? Amunoni n'amugamba nti Njagala Tamali mwannyina muganda wange Abusaalomu. 10S2A013.005 And Jonadab said unto him, Lay thee down on thy bed, and make thyself sick: and when thy father cometh to see thee, say unto him, I pray thee, let my sister Tamar come, and give me meat, and dress the meat in my sight, that I may see it, and eat it at her hand. %%% Awo Yonadabu n'amugamba nti Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze: kale kitaawo bw'aliba ng'azze okukulaba, n'omugmaba nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, ampe emmere okulya, era afumbe emmere mu maaso gange ngirabe ngiriire mu ngalo ze. 10S2A013.006 So Amnon lay down, and made himself sick: and when the king was come to see him, Amnon said unto the king, I pray thee, let Tamar my sister come, and make me a couple of cakes in my sight, that I may eat at her hand. %%% Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza: awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange ndiire mu ngalo ze. 10S2A013.007 Then David sent home to Tamar, saying, Go now to thy brother Amnon's house, and dress him meat. %%% Awo Dawudi n'atuma eka eri Tamali ng'ayogera nti Genda nno eri ennyumba ya muganda we Amunoni omufumbire emmere. 10S2A013.008 So Tamar went to her brother Amnon's house; and he was laid down. And she took flour, and kneaded it, and made cakes in his sight, and did bake the cakes. %%% Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya muganda we Amunoni; ye ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya n'abumba emigaati mu maaso ge n'ayokya emigaati. 10S2A013.009 And she took a pan, and poured them out before him; but he refused to eat. And Amnon said, Have out all men from me. And they went out every man from him. %%% N'addira ekikalango n'agifuka mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti Abasajja bonna bave we ndi. Ne bava w'ali buli musajja. 10S2A013.010 And Amnon said unto Tamar, Bring the meat into the chamber, that I may eat of thine hand. And Tamar took the cakes which she had made, and brought them into the chamber to Amnon her brother. %%% Amunoni n'agamba Tamali nti Leeta emmere mu kisenge ndiire mu ngalo zo. Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agireeta mu kisenge eri Amunoni mwannyina. 10S2A013.011 And when she had brought them unto him to eat, he took hold of her, and said unto her, Come lie with me, my sister. %%% Awo bwe yagimusembereza okulya n'amukwata n'amugamba nti Jjangu osule nange, mwannyinaze. 10S2A013.012 And she answered him, Nay, my brother, do not force me; for no such thing ought to be done in Israel: do not thou this folly. %%% N'amuddamu nti Nedda, mwannyinaze, tonkwata; kubanga tekigwanidde kukola kigambo ekifaanana bwe kityo mu Isiraeri: tokola busirusiru buno. 10S2A013.013 And I, whither shall I cause my shame to go? and as for thee, thou shalt be as one of the fools in Israel. Now therefore, I pray thee, speak unto the king; for he will not withhold me from thee. %%% Nange nno naatwala wa obuwemu bwange? naawe oliba ng'omu ku basirusiru mu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, yogera ne kabaka; kubanga tajja kukunnyima. 10S2A013.014 Howbeit he would not hearken unto her voice: but, being stronger than she, forced her, and lay with her. %%% Naye n'atakkiriza kuwulira ddoboozi lye: naye kubanga yamusinga amaanyi n'amukwata n'asula naye. 10S2A013.015 Then Amnon hated her exceedingly; so that the hatred wherewith he hated her was greater than the love wherewith he had loved her. And Amnon said unto her, Arise, be gone. %%% Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti Golokoka ogende. 10S2A013.016 And she said unto him, There is no cause: this evil in sending me away is greater than the other that thou didst unto me. But he would not hearken unto her. %%% N'ayogera nti Nedda, kubanga ekyonoono kino ekinene ky'onkola ng'ongoba kisinga kiri ky'onkoze. Naye n'ataganya kumuwulira. 10S2A013.017 Then he called his servant that ministered unto him, and said, Put now this woman out from me, and bolt the door after her. %%% Awo n'alyoka ayita omuddu we eyamuweerezanga n'ayogera nti Fulumya nno omukazi ono ave we ndi, osibe oluggi ennyuma we. 10S2A013.018 And she had a garment of divers colours upon her: for with such robes were the king's daughters that were virgins apparelled. Then his servant brought her out, and bolted the door after her. %%% Era yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi: kubanga bwe baayambalanga bwe batyo abawala ba kabaka abatamanyi musajja. Awo omuddu we n'amufulumya n'asiba oluggi ennyuma we. 10S2A013.019 And Tamar put ashes on her head, and rent her garment of divers colours that was on her, and laid her hand on her head, and went on crying. %%% Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka omukono gwe n'agenda ng'akaaba. 10S2A013.020 And Absalom her brother said unto her, Hath Amnon thy brother been with thee? but hold now thy peace, my sister: he is thy brother; regard not this thing. So Tamar remained desolate in her brother Absalom's house. %%% Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti Amunoni mwannyoko abadde naawe? naye kaakano sirika, mwannyinaze: ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo. Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba. 10S2A013.021 But when king David heard of all these things, he was very wroth. %%% Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo. 10S2A013.022 And Absalom spake unto his brother Amnon neither good nor bad: for Absalom hated Amnon, because he had forced his sister Tamar. %%% Abusaalomu n'atayogera ne Amunoni newakubadde ebirungi newakubadde ebibi: kubanga Abusaalomu n'akyawa Amunoni, kubanga yali akutte Tamali mwannyina. 10S2A013.023 And it came to pass after two full years, that Absalom had sheepshearers in Baalhazor, which is beside Ephraim: and Absalom invited all the king's sons. %%% Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'eidiga ze e Baalukazoli, ekiri ku nabbali ga Efulayimu: Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna. 10S2A013.024 And Absalom came to the king, and said, Behold now, thy servant hath sheepshearers; let the king, I beseech thee, and his servants go with thy servant. %%% Abusaalomu n'ajja eri kabaka n’ayogera nti Laba nno, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde, kabaka n'abbaddu be bagende n'omuddu wo. 10S2A013.025 And the king said to Absalom, Nay, my son, let us not all now go, lest we be chargeable unto thee. And he pressed him: howbeit he would not go, but blessed him. %%% Kakaka n'agamba Abusaalomu nti Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera. N'amutayirira: naye n'atakkiriza kugenda, naye n'amusabira mukisa. 10S2A013.026 Then said Absalom, If not, I pray thee, let my brother Amnon go with us. And the king said unto him, Why should he go with thee? %%% Awo Abusaalomu n'ayogera nti ogaanyi, nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe. Kabaka n'amugamba nti Ekinaaba kimutwala nawe kiki? 10S2A013.027 But Absalom pressed him, that he let Amnon and all the king's sons go with him. %%% Naye Abusaalomu n'amutayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye. 10S2A013.028 Now Absalom had commanded his servants, saying, Mark ye now when Amnon's heart is merry with wine, and when I say unto you, Smite Amnon; then kill him, fear not: have not I commanded you? be courageous, and be valiant. %%% Awo Abusaalomu n'alagira abaddu be ng'ayogera nti Mwekkaanye nno, omutima gwa Amunoni nga gusanyuse olw'omwenge; awo bwe nnaabagamba nti Mufumite Amunoni, mumutte, temutya: si nze mbalagidde? mugume emyoyo mube abazira. 10S2A013.029 And the servants of Absalom did unto Amnon as Absalom had commanded. Then all the king's sons arose, and every man gat him up upon his mule, and fled. %%% Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka, ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 10S2A013.030 And it came to pass, while they were in the way, that tidings came to David, saying, Absalom hath slain all the king's sons, and there is not one of them left. %%% Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nga boogera nti Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu. 10S2A013.031 Then the king arose, and tare his garments, and lay on the earth; and all his servants stood by with their clothes rent. %%% Awo kabaka n'agolokoka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna ne bayimirira gy'ali nga bayuzizza engoye zaabwe. 10S2A013.032 And Jonadab, the son of Shimeah David's brother, answered and said, Let not my lord suppose that they have slain all the young men the king's sons; for Amnon only is dead: for by the appointment of Absalom this hath been determined from the day that he forced his sister Tamar. %%% Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti Mukama wange aleme okulowooza nga basse abalenzi bonna abaana ba kabaka; kubanga Amunoni yekka ye afudde: kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'akimalirira okuva ku lunaku lwe yakwata Tamali mwannyina. 10S2A013.033 Now therefore let not my lord the king take the thing to his heart, to think that all the king's sons are dead: for Amnon only is dead. %%% Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza ng'abaana ba kabaka bonna bafudde: kubanga Amunoni yekka ye afudde. 10S2A013.034 But Absalom fled. And the young man that kept the watch lifted up his eyes, and looked, and, behold, there came much people by the way of the hill side behind him. %%% Naye Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyakuumanga n'ayimusa amaaso ge n'atunula, awo, laba, abantu bangi nga bajja nga bafuluma mu kkubo ery'oku lusozi ennyuma we. 10S2A013.035 And Jonadab said unto the king, Behold, the king's sons come: as thy servant said, so it is. %%% Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti Laba, abaana ba kabaka batuuse: ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe guli bwe gutyo. 10S2A013.036 And it came to pass, as soon as he had made an end of speaking, that, behold, the king's sons came, and lifted up their voice and wept: and the king also and all his servants wept very sore. %%% Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, awo, laba, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba: era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini. 10S2A013.037 But Absalom fled, and went to Talmai, the son of Ammihud, king of Geshur. And David mourned for his son every day. %%% Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'anaakuwaliranga mutabani we buli lunaku. 10S2A013.038 So Absalom fled, and went to Geshur, and was there three years. %%% Awo Abusaalomu n'adduka n'agenda e Gesuli, n'amalayo emyaka esatu. 10S2A013.039 And the soul of king David longed to go forth unto Absalom: for he was comforted concerning Amnon, seeing he was dead. %%% Dawudi ne yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu: kubanga yakubagizibwa olwa Amunoni, okuba ng'afudde. 10S2A014.001 Now Joab the son of Zeruiah perceived that the king's heart was toward Absalom. %%% Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka guli eri Abusaalomu. 10S2A014.002 And Joab sent to Tekoah, and fetched thence a wise woman, and said unto her, I pray thee, feign thyself to be a mourner, and put on now mourning apparel, and anoint not thyself with oil, but be as a woman that had a long time mourned for the dead: %%% Yowaabu n'atuma e Tekowa n'akimayo omukazi ow'amagezi n'amugamba nti Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, nkwegayiridde, so tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro bingi ng'akaabira omufu: 10S2A014.003 And come to the king, and speak on this manner unto him. So Joab put the words in her mouth. %%% oyingire eri kabaka omugambe bw'otyo. Awo Yowaabu n'amuweerera ebigambo. 10S2A014.004 And when the woman of Tekoah spake to the king, she fell on her face to the ground, and did obeisance, and said, Help, O king. %%% Awo omukazi ow'e Tekowa bwe yayogera ne kabaka, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza n'ayogera nti Mbeera, ai kabaka. 10S2A014.005 And the king said unto her, What aileth thee? And she answered, I am indeed a widow woman, and mine husband is dead. %%% Kabaka n'amugamba nti Obadde otya? N'addamu nti Mazima nze ndi mukazi nnammwandu, ne baze yafa. 10S2A014.006 And thy handmaid had two sons, and they two strove together in the field, and there was none to part them, but the one smote the other, and slew him. %%% Era omuzaana wo yalina abaana babiri, ne balwana bombi ku ttale, so nga tewali wa kubataasa, naye omu n'afumita munne n'amutta. 10S2A014.007 And, behold, the whole family is risen against thine handmaid, and they said, Deliver him that smote his brother, that we may kill him, for the life of his brother whom he slew; and we will destroy the heir also: and so they shall quench my coal which is left, and shall not leave to my husband neither name nor remainder upon the earth. %%% Kale, laba, ekika kyonna kimugolokokeddeko omuzaana wo era bayogera nti Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta; tutte bwe tutyo n'omusika: kale bwe batyo banaazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna. 10S2A014.008 And the king said unto the woman, Go to thine house, and I will give charge concerning thee. %%% Awo kabaka n'agamba omukazi nti Genda ewuwo, nange n'alagira ebigambo byo bwe binaaba. 10S2A014.009 And the woman of Tekoah said unto the king, My lord, O king, the iniquity be on me, and on my father's house: and the king and his throne be guiltless. %%% Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti Mukama wange, ai kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange: kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka. 10S2A014.010 And the king said, Whosoever saith ought unto thee, bring him to me, and he shall not touch thee any more. %%% Kabaka n'ayogera nti Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri. 10S2A014.011 Then said she, I pray thee, let the king remember the LORD thy God, that thou wouldest not suffer the revengers of blood to destroy any more, lest they destroy my son. And he said, As the LORD liveth, there shall not one hair of thy son fall to the earth. %%% Awo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, kabaka ajjukire Mukama Katonda wo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange. N'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi. 10S2A014.012 Then the woman said, Let thine handmaid, I pray thee, speak one word unto my lord the king. And he said, Say on. %%% Awo omukazi n'ayogera nti Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka. N'ayogera nti Yogera. 10S2A014.013 And the woman said, Wherefore then hast thou thought such a thing against the people of God? for the king doth speak this thing as one which is faulty, in that the king doth not fetch home again his banished. %%% Omukazi n'ayogera nti Kale wateesezza ki ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? kubanga kabaka bw'ayogera ekigambo ekyo, aliŋŋanga aliko omusango, kubanga kabaka takomyawo eka owuwe eyagobebwa. 10S2A014.014 For we must needs die, and are as water spilt on the ground, which cannot be gathered up again; neither doth God respect any person: yet doth he devise means, that his banished be not expelled from him. %%% Kubanga kitugwanira okufa, era tuliŋŋanga amazzi agayiise wansi agatayinzika kuyooleka nate; so Katonda taggyaawo bulamu, naye n'asala amagezi oyo eyagobebwa aleme okuba omudduse gy'ali. 10S2A014.015 Now therefore that I am come to speak of this thing unto my lord the king, it is because the people have made me afraid: and thy handmaid said, I will now speak unto the king; it may be that the king will perform the request of his handmaid. %%% Kale nno kubanga nzize okwogera ekigambo ekyo ne mukama wange kabaka, kyenvudde njija kubanga abantu bantiisizza: omuzaana wo n'ayogera nti Kaakano naayogera ne kabaka; mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde. 10S2A014.016 For the king will hear, to deliver his handmaid out of the hand of the man that would destroy me and my son together out of the inheritance of God. %%% Kubanga kabaka anaawulira, okuwonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza fembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda. 10S2A014.017 Then thine handmaid said, The word of my lord the king shall now be comfortable: for as an angel of God, so is my lord the king to discern good and bad: therefore the LORD thy God will be with thee. %%% Awo omuzaana wo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, ekigambo kya mukama wange kabaka kibeere kya kusanyusa: kubanga mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda okwawulamu ebirungi n'ebibi: era Mukama Katonda wo abeere naawe. 10S2A014.018 Then the king answered and said unto the woman, Hide not from me, I pray thee, the thing that I shall ask thee. And the woman said, Let my lord the king now speak. %%% Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza. Omukazi n'ayogera nti Mukama wange kabaka ayogere kaakano. 10S2A014.019 And the king said, Is not the hand of Joab with thee in all this? And the woman answered and said, As thy soul liveth, my lord the king, none can turn to the right hand or to the left from ought that my lord the king hath spoken: for thy servant Joab, he bade me, and he put all these words in the mouth of thine handmaid: %%% Kabaka n'ayogera nti Omukono gwa Yowaabu guli naawe mu bino byonna? Omukazi n'addamu n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde: kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna: 10S2A014.020 To fetch about this form of speech hath thy servant Joab done this thing: and my lord is wise, according to the wisdom of an angel of God, to know all things that are in the earth. %%% okuwaanyisa ekigambo bwe kifaanana omuddu wo Yowaabu kyavudde akola kino: era mukama wange mugezigezi ng'amagezi bwe gali aga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi. 10S2A014.021 And the king said unto Joab, Behold now, I have done this thing: go therefore, bring the young man Absalom again. %%% Kabaka n'agamba Yowaabu nti Laba nno, ekigambo kino nkikoze: kale genda omukomyewo omulenzi Abusaalomu. 10S2A014.022 And Joab fell to the ground on his face, and bowed himself, and thanked the king: and Joab said, To day thy servant knoweth that I have found grace in thy sight, my lord, O king, in that the king hath fulfilled the request of his servant. %%% Awo Yowaabu n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka: Yowaabu n'ayogera nti Leero omuddu wo amanyi nga ŋŋanze mu maaso go, mukama wange, ai kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amwegayiridde. 10S2A014.023 So Joab arose and went to Geshur, and brought Absalom to Jerusalem. %%% Awo Yowaabu n'agolokoka n'agenda e Gesuli n'aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi. 10S2A014.024 And the king said, Let him turn to his own house, and let him not see my face. So Absalom returned to his own house, and saw not the king's face. %%% Kabaka n'ayogera nti Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okulaba amaaso gange. Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka. 10S2A014.025 But in all Israel there was none to be so much praised as Absalom for his beauty: from the sole of his foot even to the crown of his head there was no blemish in him. %%% Awo mu Isiraeri yenna temwali n'omu wa kutenderezebwa nga Abusaalomu olw'obulungi bwe: okuva ku bigere bye wansi okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi. 10S2A014.026 And when he polled his head, (for it was at every year's end that he polled it: because the hair was heavy on him, therefore he polled it:) he weighed the hair of his head at two hundred shekels after the king's weight. %%% Awo bwe yasalanga enviiri ze, (era buli mwaka bwe gwaggwangako n'azisalanga: kubanga, zaamuzitoowereranga kyeyava azisala:) n'apima enviiri ez'oku mutwe gwe ne ziba sekeri ebikumi bibiri, ng'okupima kwa kabaka bwe kwali. 10S2A014.027 And unto Absalom there were born three sons, and one daughter, whose name was Tamar: she was a woman of a fair countenance. %%% Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'obulenzi basatu n'ow'obuwala omu, erinnya lye Tamali: yali mukazi wa maaso malungi. 10S2A014.028 So Absalom dwelt two full years in Jerusalem, and saw not the king's face. %%% Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri emirambirira mu Yerusaalemi; n'atalaba maaso ga kabaka. 10S2A014.029 Therefore Absalom sent for Joab, to have sent him to the king; but he would not come to him: and when he sent again the second time, he would not come. %%% Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali: awo n'atumya nate omulundi ogw'okubiri, naye n'atakkiriza kujja. 10S2A014.030 Therefore he said unto his servants, See, Joab's field is near mine, and he hath barley there; go and set it on fire. And Absalom's servants set the field on fire. %%% Kyeyava agamba abaddu be nti Laba, ennimiro ya Yowaabu eriraanye n'eyange, era alina sayiri eyo; mugende mugyokye. Awo abaddu ba Abusaalomu ne bookya ennimiro. 10S2A014.031 Then Joab arose, and came to Absalom unto his house, and said unto him, Wherefore have thy servants set my field on fire? %%% Awo Yowaabu n'alyoka agolokoka n'ajja eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amugamba nti Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange? 10S2A014.032 And Absalom answered Joab, Behold, I sent unto thee, saying, Come hither, that I may send thee to the king, to say, Wherefore am I come from Geshur? it had been good for me to have been there still: now therefore let me see the king's face; and if there be any iniquity in me, let him kill me. %%% Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti Laba nakutumira nga njogera nti Jjangu wano, nkutume eri kabaka okwogera nti Njijiridde ki okuva e Gesuli? mbeera kubeera eyo ne kaakano kyandibadde kirungi gye ndi: kale nno ndabe amaaso ga kabaka; era oba nga mulimu obutali butuukirivu mu nze, anzite. 10S2A014.033 So Joab came to the king, and told him: and when he had called for Absalom, he came to the king, and bowed himself on his face to the ground before the king: and the king kissed Absalom. %%% Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira: awo bwe yayita Abusaalomu, n'ajja eri kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka: kabaka n'anywegera Abusaalomu. 10S2A015.001 And it came to pass after this, that Absalom prepared him chariots and horses, and fifty men to run before him. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge. 10S2A015.002 And Absalom rose up early, and stood beside the way of the gate: and it was so, that when any man that had a controversy came to the king for judgment, then Absalom called unto him, and said, Of what city art thou? And he said, Thy servant is of one of the tribes of Israel. %%% Abusaalomu n'agolokokanga mu makya n'ayimirira ku kkubo erya wankaaki: awo olwatuuka omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga eyali ey'okujja eri kabaka okusalirwa omusango, awo Abusaalomu n'amuyitanga n'amugamba nti Oli wa ku kyalo ki? N'ayogera nti Omuddu wo wa kika kimu kya Isiraeri. 10S2A015.003 And Absalom said unto him, See, thy matters are good and right; but there is no man deputed of the king to hear thee. %%% Abusaalomu n'amugamba nti Laba, ebigambo byo birungi bya nsonga; naye tewali muntu kabaka gw'atikkidde okukuwulira. 10S2A015.004 Absalom said moreover, Oh that I were made judge in the land, that every man which hath any suit or cause might come unto me, and I would do him justice! %%% Abusaalomu n'ayogeranga era nti Singa nze nfuuliddwa mulamuzi mu nsi, buli muntu alina ensonga yonna oba musango ajjenga gye ndi, nange nandimukoledde eby'ensonga! 10S2A015.005 And it was so, that when any man came nigh to him to do him obeisance, he put forth his hand, and took him, and kissed him. %%% Awo olwatuuka omuntu yenna bwe yasemberanga okumweyanza, n'agololanga omukono gwe n'amukwatako n'amunywegera. 10S2A015.006 And on this manner did Absalom to all Israel that came to the king for judgment: so Absalom stole the hearts of the men of Israel. %%% Awo bw'atyo Abusaalomu bwe yakolanga Isiraeri yenna abajjanga eri kabaka okusalirwa emisango: awo Abusaalomu n'abba bw'atyo emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri. 10S2A015.007 And it came to pass after forty years, that Absalom said unto the king, I pray thee, let me go and pay my vow, which I have vowed unto the LORD, in Hebron. %%% Awo olwatuuka emyaka ana bwe gyaggwa Abusaalomu n'agamba kabaka nti Nkwegayiridde ŋŋende nsasule obweyamo bwange, bwe nneeyama Mukama, e Kebbulooni. 10S2A015.008 For thy servant vowed a vow while I abode at Geshur in Syria, saying, If the LORD shall bring me again indeed to Jerusalem, then I will serve the LORD. %%% Kubanga omuddu wo yeeyama obweyamo bwe nnali nga ntuula e Gesuli mu Busuuli, nga njogera nti Mukama bw'alinzirizaayo ddala e Yerusaalemi, kale ndiweereza Mukama. 10S2A015.009 And the king said unto him, Go in peace. So he arose, and went to Hebron. %%% Kabaka n'amugamba nti Genda mirembe. Awo n'agolokoka n'agenda e Kebbulooni. 10S2A015.010 But Absalom sent spies throughout all the tribes of Israel, saying, As soon as ye hear the sound of the trumpet, then ye shall say, Absalom reigneth in Hebron. %%% Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni . 10S2A015.011 And with Absalom went two hundred men out of Jerusalem, that were called; and they went in their simplicity, and they knew not any thing. %%% Era ne wagenda ne Abusaalomu abasajja ebikumi bibiri abaava e Yerusaalemi, abaayitibwa ne bagenda nga tebamanyiridde; so tebaategeera kigambo kyonna. 10S2A015.012 And Absalom sent for Ahithophel the Gilonite, David's counsellor, from his city, even from Giloh, while he offered sacrifices. And the conspiracy was strong; for the people increased continually with Absalom. %%% Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi Omugiro, eyateesanga ebigambo ne Dawudi, okuva mu kibuga kye, e Giro, ng'awaayo ssadaaka. Okwekoba okwo ne kuba n'amaanyi; kubanga abantu beeyongerayongeranga bulijjo abaali ne Abusaalomu. 10S2A015.013 And there came a messenger to David, saying, The hearts of the men of Israel are after Absalom. %%% Awo ne wajja omubaka eri Dawudi ng'ayogera nti Emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri gigoberedde Abusaalomu. 10S2A015.014 And David said unto all his servants that were with him at Jerusalem, Arise, and let us flee; for we shall not else escape from Absalom: make speed to depart, lest he overtake us suddenly, and bring evil upon us, and smite the city with the edge of the sword. %%% Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti Tugolokoke tudduke; bwe tutadduke tewaabeewo ku ffe anaawona Abusaalomu: mwanguwe okugenda, aleme okututuukako amangu n'atuleetako akabi, n'atta ekibuga n'obwogi bw'ekitala. 10S2A015.015 And the king's servants said unto the king, Behold, thy servants are ready to do whatsoever my lord the king shall appoint. %%% Awo abaddu ba kabaka ne bagamba kabaka nti Laba, abaddu bo beeteseteese okukola kyonna mukama wange kabaka ky'anaayagala. 10S2A015.016 And the king went forth, and all his household after him. And the king left ten women, which were concubines, to keep the house. %%% Kabaka n'afuluma n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera. Kabaka n'aleka abakazi kkumi abazaana okukuuma ennyunba. 10S2A015.017 And the king went forth, and all the people after him, and tarried in a place that was far off. %%% Awo kabaka n'afuluma, abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki. 10S2A015.018 And all his servants passed on beside him; and all the Cherethites, and all the Pelethites, and all the Gittites, six hundred men which came after him from Gath, passed on before the king. %%% Abaddu be bonna ne bamuyitako ku mabbali; n'Abakeresi bonna n'Abaperesi bonna n'Abagitti bonna, abasajja lukaaga abaamugoberera okuva e Gaasi, ne bayita mu maaso ga kabaka. 10S2A015.019 Then said the king to Ittai the Gittite, Wherefore goest thou also with us? return to thy place, and abide with the king: for thou art a stranger, and also an exile. %%% Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti Naawe ogendera ki naffe? ddayo obeere ne kabaka: kubanga oli mugenyi era eyagobebwa; ddayo ewuwo ggwe. 10S2A015.020 Whereas thou camest but yesterday, should I this day make thee go up and down with us? seeing I go whither I may, return thou, and take back thy brethren: mercy and truth be with thee. %%% Ggwe eyajja olwa jjo, nandikutambuzizza eruuyi n'eruuyi wamu naffe leero, kubanga nze ŋŋenda gye nnyinza okugenda? ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe. 10S2A015.021 And Ittai answered the king, and said, As the LORD liveth, and as my lord the king liveth, surely in what place my lord the king shall be, whether in death or life, even there also will thy servant be. %%% Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga. 10S2A015.022 And David said to Ittai, Go and pass over. And Ittai the Gittite passed over, and all his men, and all the little ones that were with him. %%% Awo Dawudi n'agamba Ittayi nti Genda osomoke. Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye. 10S2A015.023 And all the country wept with a loud voice, and all the people passed over: the king also himself passed over the brook Kidron, and all the people passed over, toward the way of the wilderness. %%% Ensi yonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka: ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni,abantu bonna ne basomokera awali ekkubo eridda mu ddungu. 10S2A015.024 And lo Zadok also, and all the Levites were with him, bearing the ark of the covenant of God: and they set down the ark of God; and Abiathar went up, until all the people had done passing out of the city. %%% Awo, laba, Zadooki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga bali naye, nga basitula essanduuko ey'endagaano ya Katonda; ne bassa essanduuko ya Katonda, Abiyasaali n'ayambuka okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga. 10S2A015.025 And the king said unto Zadok, Carry back the ark of God into the city: if I shall find favour in the eyes of the LORD, he will bring me again, and shew me both it, and his habitation: %%% Kabaka n'agamba Zadooki nti Situla essanduuko ya Katonda ogizzeeyo mu kibuga: bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, aligindaga yo era n'ennyumba ye: 10S2A015.026 But if he thus say, I have no delight in thee; behold, here am I, let him do to me as seemeth good unto him. %%% naye bw'alyogera bw'atyo nti Sikusanyukira n'akatono; laba, nze nzuuno, ankole nga bw'asiima. 10S2A015.027 The king said also unto Zadok the priest, Art not thou a seer? return into the city in peace, and your two sons with you, Ahimaaz thy son, and Jonathan the son of Abiathar. %%% Era kabaka n'agamba Zadooki kabona nti Ggwe toli mulabi? ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi naawe, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali. 10S2A015.028 See, I will tarry in the plain of the wilderness, until there come word from you to certify me. %%% Laba, nze ndirindirira ku misomoko egy'omu ddungu okutuusa ekigambo lwe kiriva gye muli okuntegeeza. 10S2A015.029 Zadok therefore and Abiathar carried the ark of God again to Jerusalem: and they tarried there. %%% Awo Zadooki ne Abiyasaali ne basitula essanduuko ya Katonda ne bagizza e Yerusaalemi: ne babeera eyo. 10S2A015.030 And David went up by the ascent of mount Olivet, and wept as he went up, and had his head covered, and he went barefoot: and all the people that was with him covered every man his head, and they went up, weeping as they went up. %%% Awo Dawudi n'alinnya awayambukirwa ku lusozi olw'emizeyituuni, n'akaaba amaziga ng'alinnya; era yali yeebisse omutwe nga talina ngatto: n'abantu bonna abaali naye ne beebikka buli muntu omutwe ne balinnya, nga bakaaba amaziga nga balinnya. 10S2A015.031 And one told David, saying, Ahithophel is among the conspirators with Absalom. And David said, O LORD, I pray thee, turn the counsel of Ahithophel into foolishness. %%% Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti Akisoferi ali mu bo abeekobaanye ne Abusaalomu. Dawudi n'ayogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru. 10S2A015.032 And it came to pass, that when David was come to the top of the mount, where he worshipped God, behold, Hushai the Archite came to meet him with his coat rent, and earth upon his head: %%% Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka ku ntikko awalinnyirwa, kwe baayimanga okusinza Katonda, laba, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe: 10S2A015.033 Unto whom David said, If thou passest on with me, then thou shalt be a burden unto me: %%% Dawudi n'amugamba nti Bw'onooyita nange, ononzitoowerera: 10S2A015.034 But if thou return to the city, and say unto Absalom, I will be thy servant, O king; as I have been thy father's servant hitherto, so will I now also be thy servant: then mayest thou for me defeat the counsel of Ahithophel. %%% naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti Nze naabanga omuddu wo, ai kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda, bwe ntyo bwe naabanga omuddu wo kaakano: kale ononzitira okuteesa kwa Akisoferi. 10S2A015.035 And hast thou not there with thee Zadok and Abiathar the priests? therefore it shall be, that what thing soever thou shalt hear out of the king's house, thou shalt tell it to Zadok and Abiathar the priests. %%% Era tolina eyo wamu naawe Zadooki ne Abiyasaali bakabona? awo olunaatuukanga buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga Zadooki ne Abiyasaali bakabona. 10S2A015.036 Behold, they have there with them their two sons, Ahimaaz Zadok's son, and Jonathan Abiathar's son; and by them ye shall send unto me every thing that ye can hear. %%% Laba, balina eyo gye bali batabani baabwe bombi. Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; era abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kigambo kye munaawuliranga. 10S2A015.037 So Hushai David's friend came into the city, and Absalom came into Jerusalem. %%% Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n'ayingira mu kibuga; Abusaalomu n'ayingira mu Yerusaalemi. 10S2A016.001 And when David was a little past the top of the hill, behold, Ziba the servant of Mephibosheth met him, with a couple of asses saddled, and upon them two hundred loaves of bread, and an hundred bunches of raisins, and an hundred of summer fruits, and a bottle of wine. %%% Awo Dawudi bwe yali ng'ayise ku ntikko awayambukirwa ebbanga ttono, laba, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'asisinkana naye ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri n'ebirimba eby'eza bbibu enkalu kikumi, n'eby'ebibala eby'ekyeya kikumi, n'ekita ky'omwenge. 10S2A016.002 And the king said unto Ziba, What meanest thou by these? And Ziba said, The asses be for the king's household to ride on; and the bread and summer fruit for the young men to eat; and the wine, that such as be faint in the wilderness may drink. %%% Kabaka n'agamba Ziba nti Bino amakulu gaabyo ki? Ziba n'ayogera nti Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga; n'emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi okulya; n'omwenge abaliyongobera mu ddungu banywe. 10S2A016.003 And the king said, And where is thy master's son? And Ziba said unto the king, Behold, he abideth at Jerusalem: for he said, To day shall the house of Israel restore me the kingdom of my father. %%% Kabaka n'ayogera nti N'omwana wa mukama wo ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, abeera e Yerusaalemi: kubanga ayogedde nti Leero ennyumba ya Isiraeri erinziriza obwakabaka bwa kitange. 10S2A016.004 Then said the king to Ziba, Behold, thine are all that pertained unto Mephibosheth. And Ziba said, I humbly beseech thee that I may find grace in thy sight, my lord, O king. %%% Awo kabaka n'agamba Ziba nti Laba, ebya Mefibosesi byonna bibyo. Ziba n'ayogera nti Neeyanze; ŋŋanje mu maaso go, mukama wange, ai kabaka. 10S2A016.005 And when king David came to Bahurim, behold, thence came out a man of the family of the house of Saul, whose name was Shimei, the son of Gera: he came forth, and cursed still as he came. %%% Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, laba, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera: n'afuluma n'ajja, n'akolima ng'ajja ng'akolima. 10S2A016.006 And he cast stones at David, and at all the servants of king David: and all the people and all the mighty men were on his right hand and on his left. %%% N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna aba kabaka Dawudi: n'abantu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi baali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 10S2A016.007 And thus said Shimei when he cursed, Come out, come out, thou bloody man, and thou man of Belial: %%% Awo Simeeyi n'ayogera bw'atyo bwe yakolima nti Vaawo; vaawo, ggwe omusajja ow'omusaayi, era omusajja wa Beriali: 10S2A016.008 The LORD hath returned upon thee all the blood of the house of Saul, in whose stead thou hast reigned; and the LORD hath delivered the kingdom into the hand of Absalom thy son: and, behold, thou art taken in thy mischief, because thou art a bloody man. %%% Mukama azzizza ku ggwe omusaayi gwonna ogw'ennyumba ya Sawulo, mu kifo kye mw'oyima okufuga; era Mukama awaddeyo obwakabaka mu mukono gwa Abusaalomu mutabani wo: era, laba, oteegeddwa mu lukwe lwo ggwe, kubanga oli musajja wa musaayi. 10S2A016.009 Then said Abishai the son of Zeruiah unto the king, Why should this dead dog curse my lord the king? let me go over, I pray thee, and take off his head. %%% Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti Embwa eno enfu ekinaaba kimukolimizza mukama wange kabaka kiki? nsomoke, nkwegayiridde, mmuggyeko omutwe. 10S2A016.010 And the king said, What have I to do with you, ye sons of Zeruiah? so let him curse, because the LORD hath said unto him, Curse David. Who shall then say, Wherefore hast thou done so? %%% Kabaka n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Kubanga akolima era kubanga Mukama amugambye nti Kolimira Dawudi; kale anaayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo? 10S2A016.011 And David said to Abishai, and to all his servants, Behold, my son, which came forth of my bowels, seeketh my life: how much more now may this Benjamite do it? let him alone, and let him curse; for the LORD hath bidden him. %%% Dawudi n'agamba Abisaayi n'abaddu be bonna nti Laba, mutabani wange eyava mu ntumbwe zange anoonya obulamu bwange: Omubenyamini oyo taasinge nnyo? mumuleke akolime; kubanga Mukama amulagidde. 10S2A016.012 It may be that the LORD will look on mine affliction, and that the LORD will requite me good for his cursing this day. %%% Mpozzi Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwa, era Mukama alinsasula obulungi olw'okunkolimira leero. 10S2A016.013 And as David and his men went by the way, Shimei went along on the hill's side over against him, and cursed as he went, and threw stones at him, and cast dust. %%% Awo Dawudi n'abasajja be ne batambula mu kkubo: Simeeyi n'ayita ku lusozi okumwolekera, n'akolima ng'agenda, n'amukasuukirira amayinja n'ayiwa enfuufu. 10S2A016.014 And the king, and all the people that were with him, came weary, and refreshed themselves there. %%% Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne bajja nga bakooye; n'aweereraweerera eyo. 10S2A016.015 And Absalom, and all the people the men of Israel, came to Jerusalem, and Ahithophel with him. %%% Awo Abusaalomu n'abantu bonna abasajja ba Isisaeri ne bajja e Yerusaalemi ne Akisoferi wamu naye. 10S2A016.016 And it came to pass, when Hushai the Archite, David's friend, was come unto Absalom, that Hushai said unto Absalom, God save the king, God save the king. %%% Awo olwatuuka Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, bwe yajja eri Abusaalomu, Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Kabaka abeere omulamu, kabaka abeere omulamu. 10S2A016.017 And Absalom said to Hushai, Is this thy kindness to thy friend? why wentest thou not with thy friend? %%% Abusaalomu n'agamba Kusaayi nti Kino kye kisa kyo eri mukwano gwo? ekyakulobera okugenda ne mukwano gwo kiki? 10S2A016.018 And Hushai said unto Absalom, Nay; but whom the LORD, and this people, and all the men of Israel, choose, his will I be, and with him will I abide. %%% Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Nedda; naye oyo Mukama n'abantu bano n'abasajja ba Isiraeri bonna gwe balonze n'abanga wuwe era n'abeeranga naye. 10S2A016.019 And again, whom should I serve? should I not serve in the presence of his son? as I have served in thy father's presence, so will I be in thy presence. %%% Era nate nandiweerezza ani? sandiweererezza mu maaso g'omwana we? nga bwe nnaweererezanga mu maaso ga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaabeeranga mu maaso go. 10S2A016.020 Then said Absalom to Ahithophel, Give counsel among you what we shall do. %%% Awo Abusaalomu n'agamba Akisoferi nti Sala amagezi bwe tuba tukola. 10S2A016.021 And Ahithophel said unto Absalom, Go in unto thy father's concubines, which he hath left to keep the house; and all Israel shall hear that thou art abhorred of thy father: then shall the hands of all that are with thee be strong. %%% Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Yingira eri abazaana ba kitaawe b'alese okukuuma ennyumba: awo Isiraeri yenna baliwulira nga kitaawo akutamiddwa: awo emikono gya bonna abali naawe ne giryoka giba n'amaanyi. 10S2A016.022 So they spread Absalom a tent upon the top of the house; and Absalom went in unto his father's concubines in the sight of all Israel. %%% Awo ne bamutimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'ayingira eri abazaana ba kitaawe mu maaso ga Isiraeri yenna. 10S2A016.023 And the counsel of Ahithophel, which he counselled in those days, was as if a man had enquired at the oracle of God: so was all the counsel of Ahithophel both with David and with Absalom. %%% N'okuteesa kwa Akisoferi, kwe yateesanga mu biro ebyo, kwabanga ng'omuntu bw'abuuza awali ekigambo kya Katonda: bwe kutyo bwe kwabanga okuteesa kwonna okwa Akisoferi eri Dawudi era n'eri Abusaalomu. 10S2A017.001 Moreover Ahithophel said unto Absalom, Let me now choose out twelve thousand men, and I will arise and pursue after David this night: %%% Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Ka nnonde nno abasajja kakumi mu enkumi bbiri ng'olokoke ngoberere Dawudi ekiro kino: 10S2A017.002 And I will come upon him while he is weary and weak handed, and will make him afraid: and all the people that are with him shall flee; and I will smite the king only: %%% era naamutuukako ng'akooye n'emikono gye nga minafu ne mmutiisa: n'abantu bonna abali naye banadduka; era naakuba kabaka yekka: 10S2A017.003 And I will bring back all the people unto thee: the man whom thou seekest is as if all returned: so all the people shall be in peace. %%% n'abantu bonna naabakomyawo gy'oli: omusajja gw'onoonya kyenkana bonna nga abakomyewo: kale abantu bonna baliba mirembe. 10S2A017.004 And the saying pleased Absalom well, and all the elders of Israel. %%% Ekigambo ekyo Abusaalomu n'akisiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna. 10S2A017.005 Then said Absalom, Call now Hushai the Archite also, and let us hear likewise what he saith. %%% Awo Abusaalomu n'ayogera nti Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire era ye ky'anaayogera. 10S2A017.006 And when Hushai was come to Absalom, Absalom spake unto him, saying, Ahithophel hath spoken after this manner: shall we do after his saying? if not; speak thou. %%% Awo Kusaayi ng'azze eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti Akisoferi ayogedde bw'atyo: tunaakola nga bw'ayogedde? oba nga si weewaawo, yogera ggwe. 10S2A017.007 And Hushai said unto Absalom, The counsel that Ahithophel hath given is not good at this time. %%% Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi. 10S2A017.008 For, said Hushai, thou knowest thy father and his men, that they be mighty men, and they be chafed in their minds, as a bear robbed of her whelps in the field: and thy father is a man of war, and will not lodge with the people. %%% Era nate Kusaayi n'ayogera nti Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale: era kitaawo musajja mulwanyi, so talisula na bantu. 10S2A017.009 Behold, he is hid now in some pit, or in some other place: and it will come to pass, when some of them be overthrown at the first, that whosoever heareth it will say, There is a slaughter among the people that follow Absalom. %%% Laba, kaakano yeekwese mu bunnya oba walala: awo olunaatuuka bwe wanaabaawo ku bo abamu abanaagwa olubereberye, buli anaawulira anaayogera nti Wabaddewo okuttibwa kungi mu bantu abagoberera Abusaalomu. 10S2A017.010 And he also that is valiant, whose heart is as the heart of a lion, shall utterly melt: for all Israel knoweth that thy father is a mighty man, and they which be with him are valiant men. %%% Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋanga omutima gw'empologoma, aliyongoberera ddala: kubanga Isiraeri yenna bamanyi kitaawo nga musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira. 10S2A017.011 Therefore I counsel that all Israel be generally gathered unto thee, from Dan even to Beersheba, as the sand that is by the sea for multitude; and that thou go to battle in thine own person. %%% Naye nze nkuwa amagezi okukuŋŋaanya gy'oli Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi; naawe mwene otabaale. 10S2A017.012 So shall we come upon him in some place where he shall be found, and we will light upon him as the dew falleth on the ground: and of him and of all the men that are with him there shall not be left so much as one. %%% Awo tulimusanga mu kifo w'alirabikira, naffe tulimugwako ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka: naye n'abasajja bonna abali naye tetulisigazaako n'omu. 10S2A017.013 Moreover, if he be gotten into a city, then shall all Israel bring ropes to that city, and we will draw it into the river, until there be not one small stone found there. %%% Era nate bw'aliba nga agenze mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu. 10S2A017.014 And Absalom and all the men of Israel said, The counsel of Hushai the Archite is better than the counsel of Ahithophel. For the LORD had appointed to defeat the good counsel of Ahithophel, to the intent that the LORD might bring evil upon Absalom. %%% Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi. Kubanga Mukama yali ataddewo okutta okuteesa okulungi okwa Akisoferi, Mukama alyoke aleete obubi ku Abusaalomu. 10S2A017.015 Then said Hushai unto Zadok and to Abiathar the priests, Thus and thus did Ahithophel counsel Absalom and the elders of Israel; and thus and thus have I counselled. %%% Awo Kusaayi n'agamba Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde amagezi Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri: nange mmuwadde amagezi bw'entyo ne bwe ntyo. 10S2A017.016 Now therefore send quickly, and tell David, saying, Lodge not this night in the plains of the wilderness, but speedily pass over; lest the king be swallowed up, and all the people that are with him. %%% Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti Tosula kiro kino ku misomoko egy'omu ddungu, naye tolema kusomoka; kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye. 10S2A017.017 Now Jonathan and Ahimaaz stayed by Enrogel; for they might not be seen to come into the city: and a wench went and told them; and they went and told king David. %%% Era Yonasaani ne Akimaazi ne babeera ku Enerogeri; omuzaana n'agendanga n'ababuulira; ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: kubanga tebandiyinzise kulabika nga bayingira mu kibuga. 10S2A017.018 Nevertheless a lad saw them, and told Absalom: but they went both of them away quickly, and came to a man's house in Bahurim, which had a well in his court; whither they went down. %%% Naye omulenzi n'abalaba n'abuulira Abusaalomu: ne bagenda bombi mangu ne bajja mu nnyumba ey'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. 10S2A017.019 And the woman took and spread a covering over the well's mouth, and spread ground corn thereon; and the thing was not known. %%% Omukazi n'addira ekisaanikizo n'akisaanikira ku kamwa k'oluzzi, n'afukako eŋŋaano ensekule; so tewaali kigambo ky'amanyibwa. 10S2A017.020 And when Absalom's servants came to the woman to the house, they said, Where is Ahimaaz and Jonathan? And the woman said unto them, They be gone over the brook of water. And when they had sought and could not find them, they returned to Jerusalem. %%% Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba; ne boogera nti Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa? Omukazi n'abagamba nti Basomose akagga ak'amazzi. Awo bwe baamala okubanoonya ne batayinza kubalaba, ne baddayo e Yerusaalemi. 10S2A017.021 And it came to pass, after they were departed, that they came up out of the well, and went and told king David, and said unto David, Arise, and pass quickly over the water: for thus hath Ahithophel counselled against you. %%% Awo olwatuuka nga bamaze okugenda ne balinnya ne bava mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: ne bagamba Dawudi nti Mugolokoke musomoke amazzi mangu: kubanga gano ge magezi Akisoferi g'abasalidde. 10S2A017.022 Then David arose, and all the people that were with him, and they passed over Jordan: by the morning light there lacked not one of them that was not gone over Jordan. %%% Awo Dawudi n'agolokoka n'abantu bonna abali naye ne basomoka Yoludaani: emmambya bwe yasala nga tekubuzeeko n'omu ku bo atannasomoka Yoludaani. 10S2A017.023 And when Ahithophel saw that his counsel was not followed, he saddled his ass, and arose, and gat him home to his house, to his city, and put his household in order, and hanged himself, and died, and was buried in the sepulchre of his father. %%% Awo Akisoferi bwe yalaba nga tebakutte kigambo kyateesezza, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agolokoka n'addayo eka mu kibuga kye, n'alongoosa ennyumba ye, ne yeetuga; n'afa ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe. 10S2A017.024 Then David came to Mahanaim. And Absalom passed over Jordan, he and all the men of Israel with him. %%% Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu n'asomoka Yoludaani, ye n'abasajja ba Isiraeri bonna wamu naye. 10S2A017.025 And Absalom made Amasa captain of the host instead of Joab: which Amasa was a man's son, whose name was Ithra an Israelite, that went in to Abigail the daughter of Nahash, sister to Zeruiah Joab's mother. %%% Abusaalomu n'afuula Amasa omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Era Amasa yali mwana wa musajja erinnya lye Isira Omuisiraeri eyayingira eri Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu. 10S2A017.026 So Israel and Absalom pitched in the land of Gilead. %%% Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi. 10S2A017.027 And it came to pass, when David was come to Mahanaim, that Shobi the son of Nahash of Rabbah of the children of Ammon, and Machir the son of Ammiel of Lodebar, and Barzillai the Gileadite of Rogelim, %%% Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu, 10S2A017.028 Brought beds, and basons, and earthen vessels, and wheat, and barley, and flour, and parched corn, and beans, and lentiles, and parched pulse, %%% ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike, 10S2A017.029 And honey, and butter, and sheep, and cheese of kine, for David, and for the people that were with him, to eat: for they said, The people is hungry, and weary, and thirsty, in the wilderness. %%% n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya: kubanga baayogera nti Abantu balumiddwa enjala era bakooye era balumiddwa ennyonta mu ddungu. 10S2A018.001 And David numbered the people that were with him, and set captains of thousands and captains of hundreds over them. %%% Awo Dawudi n'abala abantu abali naye n'abateekako abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi. 10S2A018.002 And David sent forth a third part of the people under the hand of Joab, and a third part under the hand of Abishai the son of Zeruiah, Joab's brother, and a third part under the hand of Ittai the Gittite. And the king said unto the people, I will surely go forth with you myself also. %%% Dawudi n'agaba eggye, ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Yowaabu n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti Nange mwene siireme kutabaala nammwe. 10S2A018.003 But the people answered, Thou shalt not go forth: for if we flee away, they will not care for us; neither if half of us die, will they care for us: but now thou art worth ten thousand of us: therefore now it is better that thou succour us out of the city. %%% Naye abantu ne boogera nti Tootabaale ggwe: kubanga ffe bwe tunadduka tebasseeyo mwoyo eri ffe; so ffe bwe tunaafaako ekitundu kyaffe, tebasseeyo mwoyo eri ffe: naye ggwe ku ffe wenkana kakumi omuwendo: kale nno ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng'oyima mu kibuga. 10S2A018.004 And the king said unto them, What seemeth you best I will do. And the king stood by the gate side, and all the people came out by hundreds and by thousands. %%% Kabaka n'abagamba nti Kye musiima kye nnaakola. Kabaka n'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma ebikumi n'enkumi. 10S2A018.005 And the king commanded Joab and Abishai and Ittai, saying, Deal gently for my sake with the young man, even with Absalom. And all the people heard when the king gave all the captains charge concerning Absalom. %%% Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu. Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu. 10S2A018.006 So the people went out into the field against Israel: and the battle was in the wood of Ephraim; %%% Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri: olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. 10S2A018.007 Where the people of Israel were slain before the servants of David, and there was there a great slaughter that day of twenty thousand men. %%% Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja obukumi bubiri. 10S2A018.008 For the battle was there scattered over the face of all the country: and the wood devoured more people that day than the sword devoured. %%% Kubanga olutalo lwabuna eyo ensi yonna: ekibira ne kitta abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyatta. 10S2A018.009 And Absalom met the servants of David. And Absalom rode upon a mule, and the mule went under the thick boughs of a great oak, and his head caught hold of the oak, and he was taken up between the heaven and the earth; and the mule that was under him went away. %%% Awo Abusaalomu yali ali awo n'asisinkana n'abaddu ba Dawudi. Abusaalomu ne yeebagala ennyumbu ye, ennyumbu n'eyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gukwata ku mwera, n'asitulibwa wakati w'eggulu n'ensi; ennyumbu gye yali yeebagadde n'etambula mu maaso. 10S2A018.010 And a certain man saw it, and told Joab, and said, Behold, I saw Absalom hanged in an oak. %%% Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti Laba, ndabye Abusaalomu ng'awanikiddwa ku mwera. 10S2A018.011 And Joab said unto the man that told him, And, behold, thou sawest him, and why didst thou not smite him there to the ground? and I would have given thee ten shekels of silver, and a girdle. %%% Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti Okulaba nno okirabye, kale kiki ekikulobedde okumukubira eyo wansi? nange nandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi n'olukoba. 10S2A018.012 And the man said unto Joab, Though I should receive a thousand shekels of silver in mine hand, yet would I not put forth mine hand against the king's son: for in our hearing the king charged thee and Abishai and Ittai, saying, Beware that none touch the young man Absalom. %%% Omusajja n'agamba Yowaabu nti Newakubadde nga ŋŋenda okuweebwa mu ngalo zange ebitundu ebya ffeeza olukumi, naye sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka: kubanga twali tuwulira kabaka n'alagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mwekuume waleme okubaawo anaakoma ku mulenzi Abusaalomu. 10S2A018.013 Otherwise I should have wrought falsehood against mine own life: for there is no matter hid from the king, and thou thyself wouldest have set thyself against me. %%% Naye singa nkoze eby'obulimba okutta obulamu bwe, (so tewali kigambo ekikwekebwa kabaka,) kale ggwe kennyini wandyeggyeeyo. 10S2A018.014 Then said Joab, I may not tarry thus with thee. And he took three darts in his hand, and thrust them through the heart of Absalom, while he was yet alive in the midst of the oak. %%% Awo Yowaabu n'ayogera nti Siyinza kutootatoota naawe bwe ntyo. N'addira obusaale busatu mu ngalo ze n'abumufumita Abusaalomu mu mutima, bwe yali ng'akyali mulamu wakati mu mwera. 10S2A018.015 And ten young men that bare Joab's armour compassed about and smote Absalom, and slew him. %%% N'abalenzi kkumi abaatwalanga ebyokulwanyisa ebya Yowaabu ne bazingiza Abusaalomu ne bamufumita ne bamutta. 10S2A018.016 And Joab blew the trumpet, and the people returned from pursuing after Israel: for Joab held back the people. %%% Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne bakomawo okugoberera Isiraeri: kubanga Yowaabu yabaziyiza. 10S2A018.017 And they took Absalom, and cast him into a great pit in the wood, and laid a very great heap of stones upon him: and all Israel fled every one to his tent. %%% Ne batwala Abusaalomu ne bamusuula mu bunnya buli obunene mu kibira, ne bamutuumako entuumo y'amayinja nnene nnyo: awo Isiraeri yenna ne baddukira buli muntu mu weema ye. 10S2A018.018 Now Absalom in his lifetime had taken and reared up for himself a pillar, which is in the king's dale: for he said, I have no son to keep my name in remembrance: and he called the pillar after his own name: and it is called unto this day, Absalom's place. %%% Era Abusaalomu bwe yali ng'akyali mulamu yaddira empagi eri mu kiwonvu kya kabaka n'agyesimbira: kubanga yayogera nti Sirina mwana kwe balijjuukirira erinnya lyange: n'ayita empagi erinnya lye ye bwe lyali: era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero. 10S2A018.019 Then said Ahimaaz the son of Zadok, Let me now run, and bear the king tidings, how that the LORD hath avenged him of his enemies. %%% Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki n'ayogera nti Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be. 10S2A018.020 And Joab said unto him, Thou shalt not bear tidings this day, but thou shalt bear tidings another day: but this day thou shalt bear no tidings, because the king's son is dead. %%% Yowaabu n'amugamba nti Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala: naye leero tootwale bigambo, kubanga omwana wa kabaka afudde. 10S2A018.021 Then said Joab to Cushi, Go tell the king what thou hast seen. And Cushi bowed himself unto Joab, and ran. %%% Awo Yowaabu n'agamba Omukusi nti Genda obuulire kabaka byolabye. Omukusi n'akutamira Yowaabu n'adduka. 10S2A018.022 Then said Ahimaaz the son of Zadok yet again to Joab, But howsoever, let me, I pray thee, also run after Cushi. And Joab said, Wherefore wilt thou run, my son, seeing that thou hast no tidings ready? %%% Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki ne yeeyongera okugamba Yowaabu omulundi ogw'okubiri nti Ka mmale gadduka nange, nkwegayiridde, ngoberere Omukusi. Yowaabu n'ayogera nti Oyagalira ki okudduka; mwana wange, ataaweebwe mpeera olw'ebigambo? 10S2A018.023 But howsoever, said he, let me run. And he said unto him, Run. Then Ahimaaz ran by the way of the plain, and overran Cushi. %%% (N'ayogera nti) Naye ka mmale gadduka. N'amugamba nti Dduka. Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n ayisa Omukusi. 10S2A018.024 And David sat between the two gates: and the watchman went up to the roof over the gate unto the wall, and lifted up his eyes, and looked, and behold a man running alone. %%% Awo Dawudi yali atudde wakati w'emiryango ebiri: omukuumi n'alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, kale, laba, omusajja ng'adduka yekka. 10S2A018.025 And the watchman cried, and told the king. And the king said, If he be alone, there is tidings in his mouth. And he came apace, and drew near. %%% Omukuumi n'ayogerera waggulu n'abuulira kabaka. Kabaka n'ayogera nti Oba ng'ali omu, aleese ebigambo mu kamwa ke. N'ayanguwa okujja n'asembera kumpi. 10S2A018.026 And the watchman saw another man running: and the watchman called unto the porter, and said, Behold another man running alone. And the king said, He also bringeth tidings. %%% Omukuumi n'alaba omusajja ow'okubiri ng'adduka: omukuumi n'akoowoola omuggazi n'ayogera nti Laba, omusajja ow'okubiri ng'adduka yekka. Kabaka n'ayogera nti Era naye aleese ebigambo. 10S2A018.027 And the watchman said, Me thinketh the running of the foremost is like the running of Ahimaaz the son of Zadok. And the king said, He is a good man, and cometh with good tidings. %%% Omukuumi n'ayogera nti Ndowooza ng'enziruka y'oyo akulembedde eriŋŋanga enziruka ya Akimaazi mutabani wa Zadooki. Kabaka n'ayogera nti Ye musajja omulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi. 10S2A018.028 And Ahimaaz called, and said unto the king, All is well. And he fell down to the earth upon his face before the king, and said, Blessed be the LORD thy God, which hath delivered up the men that lifted up their hand against my lord the king. %%% Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti Mirembe. N'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka n'ayogera nti Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abaagololera omukono gwabwe ku mukama wange kabaka. 10S2A018.029 And the king said, Is the young man Absalom safe? And Ahimaaz answered, When Joab sent the king's servant, and me thy servant, I saw a great tumult, but I knew not what it was. %%% Kabaka n'ayogera nti Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe? Akimaazi n'addamu nti Yowaabu bwe yatuma omuddu wa kabaka, nze omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye ne simanya bwe lwabadde. 10S2A018.030 And the king said unto him, Turn aside, and stand here. And he turned aside, and stood still. %%% Kabaka n'ayogera nti Weekooloobye oyimirire eno. Ne yeekooloobya n'ayimirira buyimirizi. 10S2A018.031 And, behold, Cushi came; and Cushi said, Tidings, my lord the king: for the LORD hath avenged thee this day of all them that rose up against thee. %%% Kale, laba, Omukusi n'ajja; Omukusi n'ayogera nti Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo: kubanga Mukama awalanye eggwanga lye leero ku abo bonna abaakugolokokerako. 10S2A018.032 And the king said unto Cushi, Is the young man Absalom safe? And Cushi answered, The enemies of my lord the king, and all that rise against thee to do thee hurt, be as that young man is. %%% Kabaka n'agamba, Omukusi nti Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe? Omukusi n'addamu nti Abalabe ba mukama wange kabaka n'abo bonna abaakugolokokerako okukukola akabi babe ng'omulenzi oyo bw'ali. 10S2A018.033 And the king was much moved, and went up to the chamber over the gate, and wept: and as he went, thus he said, O my son Absalom, my son, my son Absalom! would God I had died for thee, O Absalom, my son, my son! %%% Awo kabaka ne yeeraliikirira nnyo n'alinnya n'agenda mu nju eri ku wankaaki n'akaaba amaziga: awo ng'agenda n'ayogera bw'atyo nti Ai, mwana wange Abusaalomu, mwana wange, mwana wange Abusaalomu! singa nkufiiridde, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange! 10S2A019.001 And it was told Joab, Behold, the king weepeth and mourneth for Absalom. %%% Awo ne babuulira Yowaabu nti Laba, kabaka akaaba amaziga akungubagira Abusaalomu. 10S2A019.002 And the victory that day was turned into mourning unto all the people: for the people heard say that day how the king was grieved for his son. %%% Awo ku lunaku olwo okuwangula ne kufuuka okukungubaga eri abantu bonna: kubanga abantu ne bawulira nga boogera ku lunaku olwo nti Kabaka anakuwalira mutabani we. 10S2A019.003 And the people gat them by stealth that day into the city, as people being ashamed steal away when they flee in battle. %%% Awo abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwaatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo. 10S2A019.004 But the king covered his face, and the king cried with a loud voice, O my son Absalom, O Absalom, my son, my son! %%% Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti mwana wange Abusaalomu, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange! 10S2A019.005 And Joab came into the house to the king, and said, Thou hast shamed this day the faces of all thy servants, which this day have saved thy life, and the lives of thy sons and of thy daughters, and the lives of thy wives, and the lives of thy concubines; %%% Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'ayogera nti Oswazizza leero amaaso g'abaddu bo bonna, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo; 10S2A019.006 In that thou lovest thine enemies, and hatest thy friends. For thou hast declared this day, that thou regardest neither princes nor servants: for this day I perceive, that if Absalom had lived, and all we had died this day, then it had pleased thee well. %%% kubanga oyagala abakukyawa n'okyawa abakwagala. Kubanga oyatudde leero ng'abakulu n'abaddu si kintu gy'oli: kubanga leero ntegedde, singa Abusaalomu abadde mulamu naffe fenna nga tufudde leero, kale wandikisiimye nnyo. 10S2A019.007 Now therefore arise, go forth, and speak comfortably unto thy servants: for I swear by the LORD, if thou go not forth, there will not tarry one with thee this night: and that will be worse unto thee than all the evil that befell thee from thy youth until now. %%% Kale nno golokoka ofulume oyogere n'abaddu bo bulungi: kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, tewaabeere naawe ekiro kino omusajja n'omu: n'ekyo kirisinga obubi ennaku zonna ze waakalaba okuva mu buto bwo ne kaakano. 10S2A019.008 Then the king arose, and sat in the gate. And they told unto all the people, saying, Behold, the king doth sit in the gate. And all the people came before the king: for Israel had fled every man to his tent. %%% Awo kabaka n'agolokoka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti Laba, kabaka atudde mu mulyango: abantu bonna ne bakiikira kabaka. Awo Isiraeri yali addukidde buli muntu mu weema ye. 10S2A019.009 And all the people were at strife throughout all the tribes of Israel, saying, The king saved us out of the hand of our enemies, and he delivered us out of the hand of the Philistines; and now he is fled out of the land for Absalom. %%% Abantu bonna ne baba nga bawakana mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti Kabaka ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; kale kaakano adduse Abusaalomu okuva mu nsi. 10S2A019.010 And Absalom, whom we anointed over us, is dead in battle. Now therefore why speak ye not a word of bringing the king back? %%% Ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kiki ekibalobera okwogera ekigambo eky'okukomyawo kabaka? 10S2A019.011 And king David sent to Zadok and to Abiathar the priests, saying, Speak unto the elders of Judah, saying, Why are ye the last to bring the king back to his house? seeing the speech of all Israel is come to the king, even to his house. %%% Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti Mugambe abakadde ba Yuda nti Kiki ekibalwisa mmwe okukira bonna okukomyawo kabaka mu nnyumba ye? kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna bituuse eri kabaka, okumuleeta mu nnyumba ye. 10S2A019.012 Ye are my brethren, ye are my bones and my flesh: wherefore then are ye the last to bring back the king? %%% Mmwe muli baganda bange, mmwe muli magumba gange n'omubiri gwange: kale kiki ekibalwisa okukira bonna okukomyawo kabaka? 10S2A019.013 And say ye to Amasa, Art thou not of my bone, and of my flesh? God do so to me, and more also, if thou be not captain of the host before me continually in the room of Joab. %%% Era mugambe Amasa nti Toli magumba gange na mubiri gwange? Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga toliba mukulu wa ggye mu maaso gange ennaku zonna mu kifo kya Yowaabu. 10S2A019.014 And he bowed the heart of all the men of Judah, even as the heart of one man; so that they sent this word unto the king, Return thou, and all thy servants. %%% N'akutamya emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ng'omutima gw'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti Komawo ggwe n'abaddu bo bonna. 10S2A019.015 So the king returned, and came to Jordan. And Judah came to Gilgal, to go to meet the king, to conduct the king over Jordan. %%% Awo kabaka n'akomawo n'ajja ku Yoludaani. Abayuda ne bajja e Girugaali okugenda okusisinkana ne kabaka, okusomosa kabaka Yoludaani. 10S2A019.016 And Shimei the son of Gera, a Benjamite, which was of Bahurim, hasted and came down with the men of Judah to meet king David. %%% Awo Simeeyi mutabani wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'abasajja ba Yuda okusisinkana ne kabaka Dawudi. 10S2A019.017 And there were a thousand men of Benjamin with him, and Ziba the servant of the house of Saul, and his fifteen sons and his twenty servants with him; and they went over Jordan before the king. %%% Era ne waba naye abasajja lukumi aba Benyamini, ne Ziba omuddu w'ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n'abaddu be amakumi abiri nga bali naye; ne basomoka Yoludaani kabaka nga waali. 10S2A019.018 And there went over a ferry boat to carry over the king's household, and to do what he thought good. And Shimei the son of Gera fell down before the king, as he was come over Jordan; %%% Eryato ne liwunguka okuwungula ab'omu nnyumba ya kabaka n'okukola nga bw'anaasiima. Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunamira kabaka ng'asomose Yoludaani. 10S2A019.019 And said unto the king, Let not my lord impute iniquity unto me, neither do thou remember that which thy servant did perversely the day that my lord the king went out of Jerusalem, that the king should take it to his heart. %%% N'agamba kabaka nti Mukama wange aleme okunzisaako obutali butuukirivu, so tojjukira ekyo omuddu wo kye yakola ng'agira ekyejo ku lunaku mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi, kirumye omwoyo kabaka. 10S2A019.020 For thy servant doth know that I have sinned: therefore, behold, I am come the first this day of all the house of Joseph to go down to meet my lord the king. %%% Kubanga omuddu wo amanyi nga nayonoona: laba, kyenvudde njija leero nga nze nsoose ennyumba yonnaeya Yusufu okuserengeta okusisinkana ne mukama wange kabaka. 10S2A019.021 But Abishai the son of Zeruiah answered and said, Shall not Shimei be put to death for this, because he cursed the LORD's anointed? %%% Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta? 10S2A019.022 And David said, What have I to do with you, ye sons of Zeruiah, that ye should this day be adversaries unto me? shall there any man be put to death this day in Israel? for do not I know that I am this day king over Israel? %%% Dawudi n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? wanaabaawo anattibwa leero mu Isiraeri? kuba simanyi nga ndi kabaka wa Isiraeri leero? 10S2A019.023 Therefore the king said unto Shimei, Thou shalt not die. And the king sware unto him. %%% Kabaka n'agamba Simeeyi nti Toofe. Kabaka n'amulayirira. 10S2A019.024 And Mephibosheth the son of Saul came down to meet the king, and had neither dressed his feet, nor trimmed his beard, nor washed his clothes, from the day the king departed until the day he came again in peace. %%% Awo Mefibosesi mutabani wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana ne kabaka; era yali tanaabanga bigere newakubadde okumwa ebirevu newakubadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. 10S2A019.025 And it came to pass, when he was come to Jerusalem to meet the king, that the king said unto him, Wherefore wentest not thou with me, Mephibosheth? %%% Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi? 10S2A019.026 And he answered, My lord, O king, my servant deceived me: for thy servant said, I will saddle me an ass, that I may ride thereon, and go to the king; because thy servant is lame. %%% N'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, omuddu wange yannimba: kubanga omuddu wo yayogera nti Naateeka amatandiiko ku ndogoyi ngyebagale ŋŋende ne kabaka; ku banga omuddu wo mulema. 10S2A019.027 And he hath slandered thy servant unto my lord the king; but my lord the king is as an angel of God: do therefore what is good in thine eyes. %%% Era yawaayiriza omuddu wo eri mukama wange kabaka; naye mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda: kale kola ekiri mu maaso go ekirungi. 10S2A019.028 For all of my father's house were but dead men before my lord the king: yet didst thou set thy servant among them that did eat at thine own table. What right therefore have I yet to cry any more unto the king? %%% Kubanga ennyumba yonna eya kitange baali bafu bufu mu maaso ga mukama wange kabaka: naye n'otuuza omuddu wo mu bo abalya ku mmeeza yo ggwe. Kale nnina nsonga ki neeyongere okukaabira kabaka? 10S2A019.029 And the king said unto him, Why speakest thou any more of thy matters? I have said, Thou and Ziba divide the land. %%% Kabaka n'amugamba nti Ekikwogeza ki nate ku bigambo byo? Nze njogera nti Ggwe ne Ziba mugabane ensi. 10S2A019.030 And Mephibosheth said unto the king, Yea, let him take all, forasmuch as my lord the king is come again in peace unto his own house. %%% Mefibosesi n'agamba kabaka nti Weewaawo, atwale byonna, kubanga mukama wange kabaka atuuse mirembe mu nnyumba ye ye. 10S2A019.031 And Barzillai the Gileadite came down from Rogelim, and went over Jordan with the king, to conduct him over Jordan. %%% Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'aserengeta okuva e Logerimu; n'asomoka Yoludaani wamu ne kabaka okumusomosa Yoludaani. 10S2A019.032 Now Barzillai was a very aged man, even fourscore years old: and he had provided the king of sustenance while he lay at Mahanaim; for he was a very great man. %%% Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga yaakamaze emyaka kinaana: era yali amuliisizza kabaka bwe yali atuula e Makanayimu; kubanga yali musajja mukulu nnyo. 10S2A019.033 And the king said unto Barzillai, Come thou over with me, and I will feed thee with me in Jerusalem. %%% Kabaka n'agamba Baluzirayi nti Jjangu osomoke nange, nange ndikuliisiza wamu nange mu Yerusaalemi. 10S2A019.034 And Barzillai said unto the king, How long have I to live, that I should go up with the king unto Jerusalem? %%% Baluzirayi n'agamba kabaka nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange zenkana wa, nnyambuke ne kabaka ŋŋende e Yerusaalemi? 10S2A019.035 I am this day fourscore years old: and can I discern between good and evil? can thy servant taste what I eat or what I drink? can I hear any more the voice of singing men and singing women? wherefore then should thy servant be yet a burden unto my lord the king? %%% Leero naakamaze emyaka kinaana: nnyinza okwawulamu ebirungi n'ebibi? omuddu we, awoomerwa bye ndya oba bye nnywa? nkyayinza okuwulira eddoboozi ly'abasajja abayimba n'abakazi abayimba? kale omuddu wo yandibeeredde ki nate azitoowerera mukama wange kabaka? 10S2A019.036 Thy servant will go a little way over Jordan with the king: and why should the king recompense it me with such a reward? %%% Omuddu wo ayagala okusomoka Yoludaani obusomosi wamu ne kabaka era olw'ekyo kabaka yandimpeeredde ki empeera eyenkanidde awo? 10S2A019.037 Let thy servant, I pray thee, turn back again, that I may die in mine own city, and be buried by the grave of my father and of my mother. But behold thy servant Chimham; let him go over with my lord the king; and do to him what shall seem good unto thee. %%% Nkwegayiridde, omuddu wo addeyo nate afiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange ne mmange. Naye, laba, omuddu wo Kimamu; oyo ye aba asomoka ne mukama wange kabaka; era omukolanga ky'olisiima. 10S2A019.038 And the king answered, Chimham shall go over with me, and I will do to him that which shall seem good unto thee: and whatsoever thou shalt require of me, that will I do for thee. %%% Kabaka n'addamu nti Kimamu anaasomoka nange, era ndimukola ky'olisiima: era kyonna ky'olyagala okunteekako, ndikukikolera. 10S2A019.039 And all the people went over Jordan. And when the king was come over, the king kissed Barzillai, and blessed him; and he returned unto his own place. %%% Abantu bonna ne basomoka Yoludaani kabaka n'asomoka: kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; n'addayo mu kifo kye ye. 10S2A019.040 Then the king went on to Gilgal, and Chimham went on with him: and all the people of Judah conducted the king, and also half the people of Israel. %%% Awo kabaka n'asomoka n'agenda e Girugaali, Kimamu n'asomoka naye: abantu bonna aba Yuda ne basomosa kabaka era n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri. 10S2A019.041 And, behold, all the men of Israel came to the king, and said unto the king, Why have our brethren the men of Judah stolen thee away, and have brought the king, and his household, and all David's men with him, over Jordan? %%% Awo, laba, abasajja ba Isiraeri bonna ne bajja eri kabaka ne bagamba kabaka nti Baganda baffe abasajja ba Yuda bakubbidde ki, ne basomosa Yoludaani kabaka n'ab'omu nnyumba ye n'abasajja ba Dawudi bonna wamu naye? 10S2A019.042 And all the men of Judah answered the men of Israel, Because the king is near of kin to us: wherefore then be ye angry for this matter? have we eaten at all of the king's cost? or hath he given us any gift? %%% Awo abasajja ba Yuda bonna ne baddamu abasajja ba Isiraeri nti Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda: kale musunguwalira ki olw'ekigambo ekyo? twali tulidde n'akatono ekintu kyonna ekya kabaka? oba atuwadde ekirabo kyonna? 10S2A019.043 And the men of Israel answered the men of Judah, and said, We have ten parts in the king, and we have also more right in David than ye: why then did ye despise us, that our advice should not be first had in bringing back our king? And the words of the men of Judah were fiercer than the words of the men of Israel. %%% Awo abasajja ba Isiraeri ne baddamu abasajja ba Yuda ne boogera nti Ebitundu kkumi ebya kabaka byaffe, era ffe tulina bingi mu Dawudi okukira mmwe: kale mwatunyoomera ki obutasooka kubuuza ffe nga muteesa naffe okukomyawo kabaka waffe? Ebigambo eby'abasajja ba Yuda ne bisinga obukambwe ebigambo eby'abasajja ba Isiraeri. 10S2A020.001 And there happened to be there a man of Belial, whose name was Sheba, the son of Bichri, a Benjamite: and he blew a trumpet, and said, We have no part in David, neither have we inheritance in the son of Jesse: every man to his tents, O Israel. %%% Awo omusajja wa Beriali yali ali eyo, erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini: n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde buli muntu mu weema ze, ggwe Isiraeri. 10S2A020.002 So every man of Israel went up from after David, and followed Sheba the son of Bichri: but the men of Judah clave unto their king, from Jordan even to Jerusalem. %%% Awo abasajja ba Isiraeri bonna ne baddayo okuleka okugoberera Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli: naye abasajja ba Yuda ne beegatta ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi. 10S2A020.003 And David came to his house at Jerusalem; and the king took the ten women his concubines, whom he had left to keep the house, and put them in ward, and fed them, but went not in unto them. So they were shut up unto the day of their death, living in widowhood. %%% Awo Dawudi n'ajja mu nnyumba ye e Yerusaalemi; kabaka n'atwala abakazi kkumi abazaana be, be yali alese okukuuma ennyumba, n'abateeka mu kkomera n'abaliisanga, naye n'atayingira gye bali. Awo ne basibibwa okutuusa ku lunaku kwe baafiira nga tebalina ba bbaabwe. 10S2A020.004 Then said the king to Amasa, Assemble me the men of Judah within three days, and be thou here present. %%% Awo kabaka n'agamba Amasa nti Mpitira abasajja ba Yuda bakuŋŋaane ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe obeeranga wano. 10S2A020.005 So Amasa went to assemble the men of Judah: but he tarried longer than the set time which he had appointed him. %%% Awo Amasa n'agenda okukuŋŋaanya Yuda: naye n'amala ebiro okukira bye yamuteekerawo. 10S2A020.006 And David said to Abishai, Now shall Sheba the son of Bichri do us more harm than did Absalom: take thou thy lord's servants, and pursue after him, lest he get him fenced cities, and escape us. %%% Dawudi n'agamba Abisaayi nti Kaakano Seba mutabani wa Bikuli alitukola obubi okusinga Abusaalomu bwe yakola: twala abaddu ba mukama wo omugoberere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona okuva mu maaso gaffe. 10S2A020.007 And there went out after him Joab's men, and the Cherethites, and the Pelethites, and all the mighty men: and they went out of Jerusalem, to pursue after Sheba the son of Bichri. %%% Ne wafuluma okumugoberera abasajja ba Yowaabu n'Abakeresi n'Abaperesi n'abasajja bonna ab'amaanyi: ne bava mu Yerusaalemi okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli. 10S2A020.008 When they were at the great stone which is in Gibeon, Amasa went before them. And Joab's garment that he had put on was girded unto him, and upon it a girdle with a sword fastened upon his loins in the sheath thereof; and as he went forth it fell out. %%% Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri mu Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Era Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby'entalo bye yayambala, era nga kuliko olukoba n'ekitala nga kisibiddwa mu kiwato kye mu kiraato kyakyo; awo ng'afuluma n'ekisowokamu ne kigwa. 10S2A020.009 And Joab said to Amasa, Art thou in health, my brother? And Joab took Amasa by the beard with the right hand to kiss him. %%% Yowaabu n'agamba Amasa nti Oli mirembe, muganda wange? Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera. 10S2A020.010 But Amasa took no heed to the sword that was in Joab's hand: so he smote him therewith in the fifth rib, and shed out his bowels to the ground, and struck him not again; and he died. So Joab and Abishai his brother pursued after Sheba the son of Bichri. %%% Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu: n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; n'afa. Yowaabu ne Abisaayi muganda we ne bayigganya Seba mutabani wa Bikuli. 10S2A020.011 And one of Joab's men stood by him, and said, He that favoureth Joab, and he that is for David, let him go after Joab. %%% Awo ne wayimirira wali omu ku balenzi ba Yowaabu n'ayogera nti Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu. 10S2A020.012 And Amasa wallowed in blood in the midst of the highway. And when the man saw that all the people stood still, he removed Amasa out of the highway into the field, and cast a cloth upon him, when he saw that every one that came by him stood still. %%% Era Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Awo omusajja oyo bwe yalaba ng'abantu bonna bayimiridde buyimirizi, n'asitula Amasa n'amuggya mu luguudo n'amutwala ku ttale, n'amusuulako ekyambalo, bwe yalaba buli amuyitako ng'ayimirira. 10S2A020.013 When he was removed out of the highway, all the people went on after Joab, to pursue after Sheba the son of Bichri. %%% Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beeyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli. 10S2A020.014 And he went through all the tribes of Israel unto Abel, and to Bethmaachah, and all the Berites: and they were gathered together, and went also after him. %%% N'atambula n'abunya ebika byonna ebya Isiraeri n'atuuka e Aberi ne Besumaaka n'Ababeri bonna ne bakuŋŋaana ne bamugoberera nabo. 10S2A020.015 And they came and besieged him in Abel of Bethmaachah, and they cast up a bank against the city, and it stood in the trench: and all the people that were with Joab battered the wall, to throw it down. %%% Ne bajja ne bamuzingiza mu Aberi eky'e Besumaaka, ne batuuma ekifunvu ku kibuga nga kyolekera ekigo: abantu bonna abaali ne Yowaabu ne bakoonanga bbugwe okumusuula. 10S2A020.016 Then cried a wise woman out of the city, Hear, hear; say, I pray you, unto Joab, Come near hither, that I may speak with thee. %%% Awo omukazi ow'amagezi n'ayogerera waggulu ng'ayima mu kibuga nti Muwulire, muwulire; mbeegayiridde, mugambe Yowaabu nti Sembera wano njogere naawe. 10S2A020.017 And when he was come near unto her, the woman said, Art thou Joab? And he answered, I am he. Then she said unto him, Hear the words of thine handmaid. And he answered, I do hear. %%% N'amusemberera; omukazi n'ayogera nti Ggwe Yowaabu? N'addamu nti Nze nzuuyo. N'alyoka amugamba nti Wulira ebigambo eby'omuzaana wo. N'addamu nti Mpulira. 10S2A020.018 Then she spake, saying, They were wont to speak in old time, saying, They shall surely ask counsel at Abel: and so they ended the matter. %%% N'alyoka ayogera nti Edda baayogeranga nti Tebalirema kubuuliza magezi e Yaberi: ne bamalira awo ekigambo. 10S2A020.019 I am one of them that are peaceable and faithful in Israel: thou seekest to destroy a city and a mother in Israel: why wilt thou swallow up the inheritance of the LORD? %%% Nze ndi wa ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Isiraeri: oyagala okuzikiriza ekibuga ne nnyina w'abaana mu Isiraeri: oyagalira ki okumira obusika bwa Mukama? 10S2A020.020 And Joab answered and said, Far be it, far be it from me, that I should swallow up or destroy. %%% Yowaabu n'addamu n'ayogera nti Kiddire eri, kiddire eri nze okumira oba okuzikiriza. 10S2A020.021 The matter is not so: but a man of mount Ephraim, Sheba the son of Bichri by name, hath lifted up his hand against the king, even against David: deliver him only, and I will depart from the city. And the woman said unto Joab, Behold, his head shall be thrown to thee over the wall. %%% Ekigambo si bwe kiri bwe kityo: naye omusajja ow'ensi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, agololedde omukono gwe ku kabaka, ku Dawudi: mumuweeyo ye yekka, nange n'ava ku kibuga. Omukazi n'agamba Yowaabu nti Laba, omutwe gwe gunaakasukibwa eri ggwe ku bbugwe. 10S2A020.022 Then the woman went unto all the people in her wisdom. And they cut off the head of Sheba the son of Bichri, and cast it out to Joab. And he blew a trumpet, and they retired from the city, every man to his tent. And Joab returned to Jerusalem unto the king. %%% Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'amagezi ge. Ne bamusalako omutwe Seba mutabani wa Bikuli, ne bagukasuka eri Yowaabu. N'afuuwa ekkondeere, ne basaasaana okuva ku kibuga, buli muntu mu weema ve. Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi eri kabaka. 10S2A020.023 Now Joab was over all the host of Israel: and Benaiah the son of Jehoiada was over the Cherethites and over the Pelethites: %%% Awo Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lyonna erya Isiraeri: ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; 10S2A020.024 And Adoram was over the tribute: and Jehoshaphat the son of Ahilud was recorder: %%% ne Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo: ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza: 10S2A020.025 And Sheva was scribe: and Zadok and Abiathar were the priests: %%% ne Seva ye yali omuwandiisi: ne Zadooki ne Abiyasaali be baali bakabona: 10S2A020.026 And Ira also the Jairite was a chief ruler about David. %%% ne Ira Omuyayiri naye yali mukulu wa Dawudi. 10S2A021.001 Then there was a famine in the days of David three years, year after year; and David enquired of the LORD. And the LORD answered, It is for Saul, and for his bloody house, because he slew the Gibeonites. %%% Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi emyaka esatu buli mwaka nga guddirira gunnaagwo; Dawudi n'anoonya amaaso ga Mukama. Mukama n'ayogera nti Lwa Sawulo na lwa nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni. 10S2A021.002 And the king called the Gibeonites, and said unto them; (now the Gibeonites were not of the children of Israel, but of the remnant of the Amorites; and the children of Israel had sworn unto them: and Saul sought to slay them in his zeal to the children of Israel and Judah.) %%% Kabaka n'ayita Abagibyoni n'abagamba: (era Abagibyoni tebaali ba ku baana ba Isiraeri naye ba ku kitimdu ekyasigala eky'Abamoli; n'abaana ba Isiraeri baali babalayiridde: Sawulo n'ayagala okubatta ng'akwatiddwa obuggya olw'abaana ba Isiraeri ne Yuda:) 10S2A021.003 Wherefore David said unto the Gibeonites, What shall I do for you? and wherewith shall I make the atonement, that ye may bless the inheritance of the LORD? %%% Dawudi n'agamba Abagibyoni nti Naabakolera ki? era naatangirira na ki, mulyoke musabire omukisa obusika bwa Mukama? 10S2A021.004 And the Gibeonites said unto him, We will have no silver nor gold of Saul, nor of his house; neither for us shalt thou kill any man in Israel. And he said, What ye shall say, that will I do for you. %%% Awo Abagibyoni ne bamugamba nti si kigambo kya ffeeza oba zaabu eri ffe ne Sawulo oba nnyumba ye; so tekitusaanira kutta muntu yenna mu Isiraeri. N'ayogera nti Kye munaayogera naakibakolera. 10S2A021.005 And they answered the king, The man that consumed us, and that devised against us that we should be destroyed from remaining in any of the coasts of Israel, %%% Ne bagamba kabaka nti Omusajja eyatuzikiriza n'atusalira amagezi, tumalibwewo obutabeera mu nsalo zonna eza Isiraeri, 10S2A021.006 Let seven men of his sons be delivered unto us, and we will hang them up unto the LORD in Gibeah of Saul, whom the LORD did choose. And the king said, I will give them. %%% baweeyo eri ffe abasajja musanvu ku batabani be, tubawanike eri Mukama mu Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama. Kabaka n'ayogera nti Ndibawaayo. 10S2A021.007 But the king spared Mephibosheth, the son of Jonathan the son of Saul, because of the LORD's oath that was between them, between David and Jonathan the son of Saul. %%% Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro kya Mukama ekyali wakati waabwe, wakati wa Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo. 10S2A021.008 But the king took the two sons of Rizpah the daughter of Aiah, whom she bare unto Saul, Armoni and Mephibosheth; and the five sons of Michal the daughter of Saul, whom she brought up for Adriel the son of Barzillai the Meholathite: %%% Naye kabaka n'atwala batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi, be yazaalira Sawulo, Alumoni ne Mefibosesi: ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi: 10S2A021.009 And he delivered them into the hands of the Gibeonites, and they hanged them in the hill before the LORD: and they fell all seven together, and were put to death in the days of harvest, in the first days, in the beginning of barley harvest. %%% n'abawaayo mu mikono gy'Abagibyoni, ne babawanikira ku lusozi mu maaso ga Mukama, ne bafiira wamu (bonna) omusanvu: era battibwa mu biro eby'amakungula nga kyebijje bisooke, amakungula ga sayiri nga gatanudde okubaawo. 10S2A021.010 And Rizpah the daughter of Aiah took sackcloth, and spread it for her upon the rock, from the beginning of harvest until water dropped upon them out of heaven, and suffered neither the birds of the air to rest on them by day, nor the beasts of the field by night. %%% Awo Lizupa muwala wa Aya n'addira ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku makungula we gaasookera okutuusa amazzi lwe gabafukibwako agava mu ggulu; n'ataganya nnyonyi za mu bbanga kubagwako emisana newakubadde ensolo ez'omu nsiko ekiro. 10S2A021.011 And it was told David what Rizpah the daughter of Aiah, the concubine of Saul, had done. %%% Ne babuulira Dawudi Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakola. 10S2A021.012 And David went and took the bones of Saul and the bones of Jonathan his son from the men of Jabeshgilead, which had stolen them from the street of Bethshan, where the Philistines had hanged them, when the Philistines had slain Saul in Gilboa: %%% Dawudi n'agenda n'aggya amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we ku basajja ab'e Yabesugireyaadi, abaali bagabbye mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye baagawanikira ku lunaku Abafirisuuti kwe battira Sawulo e Girubowa: 10S2A021.013 And he brought up from thence the bones of Saul and the bones of Jonathan his son; and they gathered the bones of them that were hanged. %%% n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we; ne bakuŋŋaanya amagumba g'abo abaawanikibwa. 10S2A021.014 And the bones of Saul and Jonathan his son buried they in the country of Benjamin in Zelah, in the sepulchre of Kish his father: and they performed all that the king commanded. And after that God was intreated for the land. %%% Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe: ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda ne yeegayirirwa ensi. 10S2A021.015 Moreover the Philistines had yet war again with Israel; and David went down, and his servants with him, and fought against the Philistines: and David waxed faint. %%% Awo Abafirisuuti ne balwana nate ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be wamu naye n'alwana n'Abafirisuuti: Dawudi n'ayongobera. 10S2A021.016 And Ishbibenob, which was of the sons of the giant, the weight of whose spear weighed three hundred shekels of brass in weight, he being girded with a new sword, thought to have slain David. %%% Awo Isubibenobu ow'oku baana b'erintu liri, obuzito bw'effumu lye sekeri za kikomo ebikumi bisatu, nga yeesibye (ekitala) ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi. 10S2A021.017 But Abishai the son of Zeruiah succoured him, and smote the Philistine, and killed him. Then the men of David sware unto him, saying, Thou shalt go no more out with us to battle, that thou quench not the light of Israel. %%% Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amuddukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri. 10S2A021.018 And it came to pass after this, that there was again a battle with the Philistines at Gob: then Sibbechai the Hushathite slew Saph, which was of the sons of the giant. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu ow'oku baana b'erintu liri. 10S2A021.019 And there was again a battle in Gob with the Philistines, where Elhanan the son of Jaareoregim, a Bethlehemite, slew the brother of Goliath the Gittite, the staff of whose spear was like a weaver's beam. %%% Awo ne waba nate entalo n'Abafirisuuu e Gobu; awo Erukanani mutabani wa Yaale-ole-gimu Omubesirekemu n'atta Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋnga omuti ogulukirwako engoye. 10S2A021.020 And there was yet a battle in Gath, where was a man of great stature, that had on every hand six fingers, and on every foot six toes, four and twenty in number; and he also was born to the giant. %%% Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga ku buli mukono n'obugere omukaaga ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina; era naye yazaalirwa erintu liri. 10S2A021.021 And when he defied Israel, Jonathan the son of Shimeah the brother of David slew him. %%% Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi muganda wa Dawudi n'amutta. 10S2A021.022 These four were born to the giant in Gath, and fell by the hand of David, and by the hand of his servants. %%% Abo abaana baazaalirwa erintu liri e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi n'omukono gw'abaddu be. 10S2A022.001 And David spake unto the LORD the words of this song in the day that the LORD had delivered him out of the hand of all his enemies, and out of the hand of Saul: %%% Awo Dawudi n'agamba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo: 10S2A022.002 And he said, The LORD is my rock, and my fortress, and my deliverer; %%% n'ayogera nti Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange era omulokozi wange, owange nze; 10S2A022.003 The God of my rock; in him will I trust: he is my shield, and the horn of my salvation, my high tower, and my refuge, my saviour; thou savest me from violence. %%% Katonda ow'olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya mu kyejo. 10S2A022.004 I will call on the LORD, who is worthy to be praised: so shall I be saved from mine enemies. %%% Naakaabira Mukama, asaanidde okutenderezebwa: Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange. 10S2A022.005 When the waves of death compassed me, the floods of ungodly men made me afraid; %%% Kubanga amayengo ag'okufa gazingiza, Amataba ag'obutatya Katonda ne gantiisa. 10S2A022.006 The sorrows of hell compassed me about; the snares of death prevented me; %%% Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Ebyambika eby'okufa byantuukako. 10S2A022.007 In my distress I called upon the LORD, and cried to my God: and he did hear my voice out of his temple, and my cry did enter into his ears. %%% Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, nakaabira Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu yeekalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge. 10S2A022.008 Then the earth shook and trembled; the foundations of heaven moved and shook, because he was wroth. %%% Ensi n'eryoka esagaasagana n'ekankana, Emisingi gy'eggulu ne gijjulukuka Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde. 10S2A022.009 There went up a smoke out of his nostrils, and fire out of his mouth devoured: coals were kindled by it. %%% Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya: Ne gukwata amanda. 10S2A022.010 He bowed the heavens also, and came down; and darkness was under his feet. %%% Yakutamya n'eggulu n'aserengeta; Ekizikiza ekiziyivu ne kiba wansi w'ebigere bye. 10S2A022.011 And he rode upon a cherub, and did fly: and he was seen upon the wings of the wind. %%% Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by'empewo. 10S2A022.012 And he made darkness pavilions round about him, dark waters, and thick clouds of the skies. %%% N'afuula ekizikiza okuba eweema ezimwetooloola: Amazzi we gakuŋŋaanira, ebire ebiziyivu eby'omu ggulu. 10S2A022.013 Through the brightness before him were coals of fire kindled. %%% Okumasamasa okwali mu maaso ge Ne kwasa amanda ag'omuliro. 10S2A022.014 The LORD thundered from heaven, and the most High uttered his voice. %%% Mukama n'abwatuka ng'ayima mu ggulu, Ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye. 10S2A022.015 And he sent out arrows, and scattered them; lightning, and discomfited them. %%% N'alasa obusaale n'abasaasaanya; N'aweereza okumyansa n'abeeraliikiriza. 10S2A022.016 And the channels of the sea appeared, the foundations of the world were discovered, at the rebuking of the LORD, at the blast of the breath of his nostrils. %%% Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, Olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze. 10S2A022.017 He sent from above, he took me; he drew me out of many waters; %%% Yatuma ng'ayima waggulu n'antwala; N'ampalula n'anziya mu mazzi amangi; 10S2A022.018 He delivered me from my strong enemy, and from them that hated me: for they were too strong for me. %%% N'amponya eri omulabe wange ow'amaanyi, Eri abo abaankyawa; kubanga bannyinga amaanyi. 10S2A022.019 They prevented me in the day of my calamity: but the LORD was my stay. %%% Bangwako ku lunaku kwe nnalabira ennaku: Naye Mukama ye yannyweza. 10S2A022.020 He brought me forth also into a large place: he delivered me, because he delighted in me. %%% Era n'anfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi: Yamponya kubanga yansanyukira. 10S2A022.021 The LORD rewarded me according to my righteousness: according to the cleanness of my hands hath he recompensed me. %%% Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ansasudde ng'obulongoofu bw'engalo zange bwe bwali. 10S2A022.022 For I have kept the ways of the LORD, and have not wickedly departed from my God. %%% Kubanga nakuumanga amakubo ga Mukama, So siddanga ku Katonda wange lwa kyejo. 10S2A022.023 For all his judgments were before me: and as for his statutes, I did not depart from them. %%% Kubanga emisango gye gyonna gy'abanga mu maaso gange: N'amateeka ge sigavangamu. 10S2A022.024 I was also upright before him, and have kept myself from mine iniquity. %%% Era nabanga eyatuukirira eri ye, ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange. 10S2A022.025 Therefore the LORD hath recompensed me according to my righteousness; according to my cleanness in his eye sight. %%% Mukama kyavudde ansasula ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ng'obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge. 10S2A022.026 With the merciful thou wilt shew thyself merciful, and with the upright man thou wilt shew thyself upright. %%% Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuntu eyatuukirira oneeraganga mutuukirivu; 10S2A022.027 With the pure thou wilt shew thyself pure; and with the froward thou wilt shew thyself unsavoury. %%% Awali omulongoofu oneeraganga mulongoofu; Era awali omukakanyavu oneeraganga aziyiza. 10S2A022.028 And the afflicted people thou wilt save: but thine eyes are upon the haughty, that thou mayest bring them down. %%% Era olirokola abantu abaabonyabonyezebwa: Naye amaaso go gatunuulira ab'amalala obasse wansi. 10S2A022.029 For thou art my lamp, O LORD: and the LORD will lighten my darkness. %%% Kubanga ggwe ttabaaza yange, ai Mukama: Era Mukama alyakira ekizikiza kyange. 10S2A022.030 For by thee I have run through a troop: by my God have I leaped over a wall. %%% Kubanga ku lulwo nziruka mbiro ne nnumba ekibiina: Ku lwa Katonda wange mbuuka ekigo: 10S2A022.031 As for God, his way is perfect; the word of the LORD is tried: he is a buckler to all them that trust in him. %%% Katonda ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakemebwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga. 10S2A022.032 For who is God, save the LORD? and who is a rock, save our God? %%% Kubanga ani Katonda wabula Mukama? Oba ani lwazi wabula Katonda waffe? 10S2A022.033 God is my strength and power: and he maketh my way perfect. %%% Katonda kye kigo kyange eky'amaanyi: Era aluŋŋamya eyatuukirira mu kkubo lye. 10S2A022.034 He maketh my feet like hinds' feet: and setteth me upon my high places. %%% Afuula ebigere bye okuba (ng'ebigere) by'ennangaazi: Era anteeka ku bifo byange ebigulumivu. 10S2A022.035 He teacheth my hands to war; so that a bow of steel is broken by mine arms. %%% Ayigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gitega omutego ogw'ekikomo. 10S2A022.036 Thou hast also given me the shield of thy salvation: and thy gentleness hath made me great. %%% Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'obuwombeefu bwo bungulumizizza. 10S2A022.037 Thou hast enlarged my steps under me; so that my feet did not slip. %%% Wagaziya ebisinde byange wansi wange, Ebigere byange ne bitaseerera. 10S2A022.038 I have pursued mine enemies, and destroyed them; and turned not again until I had consumed them. %%% Nayigganya abalabe bange, ne mbazikiriza; So saakyuka nate nga tebannamalibwawo. 10S2A022.039 And I have consumed them, and wounded them, that they could not arise: yea, they are fallen under my feet. %%% Era mbamazeewo ne mbafumitira ddala n'okuyinza ne batayinza kugolokoka: Weewaawo, bagudde wansi w'ebigere byange. 10S2A022.040 For thou hast girded me with strength to battle: them that rose up against me hast thou subdued under me. %%% Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Owangudde wansi wange abo abangolokokerako. 10S2A022.041 Thou hast also given me the necks of mine enemies, that I might destroy them that hate me. %%% Era abalabe bange obankubizza amabega, nzikirize abo abankyawa. 10S2A022.042 They looked, but there was none to save; even unto the LORD, but he answered them not. %%% Baatunula naye tewali wa kulokola; Baatunuulira Mukama naye n'atabaddamu. 10S2A022.043 Then did I beat them as small as the dust of the earth, I did stamp them as the mire of the street, and did spread them abroad. %%% Awo ne mbasekulirasekulira ddala ng'enfuufu ey'oku nsi, Nabasamba ng'ebitosi eby'omu nguudo ne mbasaasaanya. 10S2A022.044 Thou also hast delivered me from the strivings of my people, thou hast kept me to be head of the heathen: a people which I knew not shall serve me. %%% Era omponyezza mu kuwakana kw'abantu bange; N'onkuuma okuba omutwe gw'amawanga: Eggwanga lye ssimanyanga Lirimpeereza. 10S2A022.045 Strangers shall submit themselves unto me: as soon as they hear, they shall be obedient unto me. %%% Bannaggwanga balinjeemulukukira: Nga kyebajje bampulire baliŋŋondera. 10S2A022.046 Strangers shall fade away, and they shall be afraid out of their close places. %%% Bannaggwanga baliggweerera, Era baliva mu bifo byabwe eby'ekyama nga bakankana. 10S2A022.047 The LORD liveth; and blessed be my rock; and exalted be the God of the rock of my salvation. %%% Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe; Agulumizibwe Katonda ow'olwazi olw'obulokozi bwange: 10S2A022.048 It is God that avengeth me, and that bringeth down the people under me, %%% Ye Katonda ampalanira eggwanga, N'assa amawanga wansi wange, 10S2A022.049 And that bringeth me forth from mine enemies: thou also hast lifted me up on high above them that rose up against me: thou hast delivered me from the violent man. %%% Era anziya mu balabe bange: Weewaawo, ongulumiza okusinga abo abangolokokerako: Omponya eri omusajja ow'ekyejo. 10S2A022.050 Therefore I will give thanks unto thee, O LORD, among the heathen, and I will sing praises unto thy name. %%% Kyennaava nkwebaza, ai Mukama, mu mawanga, ne nnyimba okutendereza erinnya lyo. 10S2A022.051 He is the tower of salvation for his king: and sheweth mercy to his anointed, unto David, and to his seed for evermore. %%% Awa kabaka we obulokozi obunene: Era amukola eby'ekisa ekingi oyo gwe yafukako amafuta, Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna. 10S2A023.001 Now these be the last words of David. David the son of Jesse said, and the man who was raised up on high, the anointed of the God of Jacob, and the sweet psalmist of Israel, said, %%% Bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Era omusajja eyagulumizibwa waggulu ayogera, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era asanyusa olwa zabbuli za Isiraeri: 10S2A023.002 The Spirit of the LORD spake by me, and his word was in my tongue. %%% Omwoyo gwa Mukama gw'ayogerera mu nze, Ekigambo kye ne kiba ku lulimi lwange. 10S2A023.003 The God of Israel said, the Rock of Israel spake to me, He that ruleth over men must be just, ruling in the fear of God. %%% Katonda wa Isiraeri yayogera, Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba: Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu, Afuga ng'atya Katonda, 10S2A023.004 And he shall be as the light of the morning, when the sun riseth, even a morning without clouds; as the tender grass springing out of the earth by clear shining after rain. %%% Aliba ng'omusana gw'enkya, enjuba bw'evaayo, Obudde obw'enkya obutaliiko bire; Omuddo omugonvu (bwe guva) mu ttaka, Olw'okwaka okutangalijja enkuba ng'ekedde. 10S2A023.005 Although my house be not so with God; yet he hath made with me an everlasting covenant, ordered in all things, and sure: for this is all my salvation, and all my desire, although he make it not to grow. %%% Mazima ennyumba yange si bw'eri bw'etyo eri Katonda; Naye yalagaana nange endagaano eterivaawo, Eyeeteeseteese mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era kye nneegomba kyonna, Newakubadde nga takikuza. 10S2A023.006 But the sons of Belial shall be all of them as thorns thrust away, because they cannot be taken with hands: %%% Naye abatatya Katonda bonna baliba ng'amaggwa ag'okusindikibwa, Kubanga tegayinza kukwatibwa na mukono: 10S2A023.007 But the man that shall touch them must be fenced with iron and the staff of a spear; and they shall be utterly burned with fire in the same place. %%% Naye omuntu agakomako Kimugwanira okubeerera ddala n'ekyuma n'olunyago lw'effumu; Era galyokerwa ddala omulizo mu kifo kyago. 10S2A023.008 These be the names of the mighty men whom David had: The Tachmonite that sat in the seat, chief among the captains; the same was Adino the Eznite: he lift up his spear against eight hundred, whom he slew at one time. %%% Gano ge mannya ag'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: Yosebubasusebesi Omutakemoni, omukulu w'abaami; era bwe yali bw'atyo Adino Omwezeni, eyalwana n'olunaana abattirwa awamu. 10S2A023.009 And after him was Eleazar the son of Dodo the Ahohite, one of the three mighty men with David, when they defied the Philistines that were there gathered together to battle, and the men of Israel were gone away: %%% Ereazaali n'amuddirira mutabani wa Dodayi omwana w'Omwakoki omu ku basajja abasatu ab'amaanyi abaali ne Dawudi, bwe baasoomoza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, n'abasajja ba Isiraeri nga bagenze: 10S2A023.010 He arose, and smote the Philistines until his hand was weary, and his hand clave unto the sword: and the LORD wrought a great victory that day; and the people returned after him only to spoil. %%% n'agolokoka n'atta Abafirisuuti omukono gwe ne gukoowa, omukono gwe ne gwegatta n'ekitala: Mukama n'aleeta okuwangula okunene ku lunaku olwo; abantu ne baddayo ennyuma we okunyaga obunyazi. 10S2A023.011 And after him was Shammah the son of Agee the Hararite. And the Philistines were gathered together into a troop, where was a piece of ground full of lentiles: and the people fled from the Philistines. %%% Ne Samma mutabani wa Agee Omukalali ye yamuddirira. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanye okuba ekibiina awaali omusiri ogw'ebijanjaalo; abantu ne badduka Abafirisuuti. 10S2A023.012 But he stood in the midst of the ground, and defended it, and slew the Philistines: and the LORD wrought a great victory. %%% Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti: Mukama n'aleeta okuwangula okunene. 10S2A023.013 And three of the thirty chief went down, and came to David in the harvest time unto the cave of Adullam: and the troop of the Philistines pitched in the valley of Rephaim. %%% N'abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu biro eby'amakungula eri empuku Adulamu; n'ekibiina ky'Abafirisuuti baali basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 10S2A023.014 And David was then in an hold, and the garrison of the Philistines was then in Bethlehem. %%% Era Dawudi yali mu mpuku mu biro ebyo n'Abafirisuuti ab'omu kigo baali mu Besirekemu. 10S2A023.015 And David longed, and said, Oh that one would give me drink of the water of the well of Bethlehem, which is by the gate! %%% Awo Dawudi ne yeegomba n'ayogera nti Singa wabaddewo anannywesa amazzi agava mu luzzi olw'e Besirekemu oluli ku wankaaki! 10S2A023.016 And the three mighty men brake through the host of the Philistines, and drew water out of the well of Bethlehem, that was by the gate, and took it, and brought it to David: nevertheless he would not drink thereof, but poured it out unto the LORD. %%% N'abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama. 10S2A023.017 And he said, Be it far from me, O LORD, that I should do this: is not this the blood of the men that went in jeopardy of their lives? therefore he would not drink it. These things did these three mighty men. %%% N'ayogera nti Kiddire eri, ai Mukama, nze okukola kino: nnywe omusaayi gw'abasajja abagenze n'obulamu bwabwe? kyeyava agaana okunywako. Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola. 10S2A023.018 And Abishai, the brother of Joab, the son of Zeruiah, was chief among three. And he lifted up his spear against three hundred, and slew them, and had the name among three. %%% Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasatu abo. N'agalula effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta n'aba n'erinnya mu abo abasatu: 10S2A023.019 Was he not most honourable of three? therefore he was their captain: howbeit he attained not unto the first three. %%% Teyali wa kitiibwa okusinga abasatu abo? kyeyava afuuka omukulu waabwe: era naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye. 10S2A023.020 And Benaiah the son of Jehoiada, the son of a valiant man, of Kabzeel, who had done many acts, he slew two lionlike men of Moab: he went down also and slew a lion in the midst of a pit in time of snow: %%% Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri wa Mowaabu bombi: era yaserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira: 10S2A023.021 And he slew an Egyptian, a goodly man: and the Egyptian had a spear in his hand; but he went down to him with a staff, and plucked the spear out of the Egyptian's hand, and slew him with his own spear. %%% era yatta Omumisiri, omusajja omulungi: era Omumisiri yali akutte effumu mu mukono gwe; naye n'aserengeta gy'ali ng'alina omuggo, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri n'amutta n'effumu lye ye. 10S2A023.022 These things did Benaiah the son of Jehoiada, and had the name among three mighty men. %%% Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi. 10S2A023.023 He was more honourable than the thirty, but he attained not to the first three. And David set him over his guard. %%% Yasinga ekitiibwa abo amakumi asatu naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi. 10S2A023.024 Asahel the brother of Joab was one of the thirty; Elhanan the son of Dodo of Bethlehem, %%% Ne Asakeri muganda wa Yowaabu yali wa ku makumi asatu abo: Erukanani mutabani wa Dodo Omubesirekemu; 10S2A023.025 Shammah the Harodite, Elika the Harodite, %%% Samma Omukalodi; Erika Omukalodi; 10S2A023.026 Helez the Paltite, Ira the son of Ikkesh the Tekoite, %%% Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa; 10S2A023.027 Abiezer the Anethothite, Mebunnai the Hushathite, %%% Abiyezeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukussai; 10S2A023.028 Zalmon the Ahohite, Maharai the Netophathite, %%% Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa; 10S2A023.029 Heleb the son of Baanah, a Netophathite, Ittai the son of Ribai out of Gibeah of the children of Benjamin, %%% Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'abaana ba Benyamini; 10S2A023.030 Benaiah the Pirathonite, Hiddai of the brooks of Gaash, %%% Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow'oku bugga obw'e Geyaasi; 10S2A023.031 Abialbon the Arbathite, Azmaveth the Barhumite, %%% Abi-aluboni Omwalubasi, Azumavesi Omubalukumi; 10S2A023.032 Eliahba the Shaalbonite, of the sons of Jashen, Jonathan, %%% Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani; 10S2A023.033 Shammah the Hararite, Ahiam the son of Sharar the Hararite, %%% Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali; 10S2A023.034 Eliphelet the son of Ahasbai, the son of the Maachathite, Eliam the son of Ahithophel the Gilonite, %%% Erifereti mutabani wa Akasubayi omwana w'omu Maakasi, Eriyamu mutabani wa Akisoferi Omugiro; 10S2A023.035 Hezrai the Carmelite, Paarai the Arbite, %%% Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi; 10S2A023.036 Igal the son of Nathan of Zobah, Bani the Gadite, %%% Igali mutabani wa Nasani ow'e Zoba, Bani Omugaadi; 10S2A023.037 Zelek the Ammonite, Nahari the Beerothite, armourbearer to Joab the son of Zeruiah, %%% Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, abaatwaliranga ebyokulwanyisa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya; 10S2A023.038 Ira an Ithrite, Gareb an Ithrite, %%% Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli; 10S2A023.039 Uriah the Hittite: thirty and seven in all. %%% Uliya Omukiiti: omuwendo gwa bonna amakumi asatu mu musanvu. 10S2A024.001 And again the anger of the LORD was kindled against Israel, and he moved David against them to say, Go, number Israel and Judah. %%% Awo obusungu ne bumukwata nate Mukama eri Isiraeri, n'abaweerera Dawudi ng'ayogera nti Genda obale Isiraeri ne Yuda. 10S2A024.002 For the king said to Joab the captain of the host, which was with him, Go now through all the tribes of Israel, from Dan even to Beersheba, and number ye the people, that I may know the number of the people. %%% Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gw'abantu. 10S2A024.003 And Joab said unto the king, Now the LORD thy God add unto the people, how many soever they be, an hundredfold, and that the eyes of my lord the king may see it: but why doth my lord the king delight in this thing? %%% Yowaabu n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo ayongere nno ku bantu, bwe benkana obungi, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe: naye mukama wange kabaka lwaki okusanyukira ekigambo ekyo? 10S2A024.004 Notwithstanding the king's word prevailed against Joab, and against the captains of the host. And Joab and the captains of the host went out from the presence of the king, to number the people of Israel. %%% Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu n'abakulu b'eggye. Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka okubala abantu ba Isiraeri. 10S2A024.005 And they passed over Jordan, and pitched in Aroer, on the right side of the city that lieth in the midst of the river of Gad, and toward Jazer: %%% Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yazeri: 10S2A024.006 Then they came to Gilead, and to the land of Tahtimhodshi; and they came to Danjaan, and about to Zidon, %%% ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimukodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni, 10S2A024.007 And came to the strong hold of Tyre, and to all the cities of the Hivites, and of the Canaanites: and they went out to the south of Judah, even to Beersheba. %%% ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani: ne bamalira ku bukiika obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba. 10S2A024.008 So when they had gone through all the land, they came to Jerusalem at the end of nine months and twenty days. %%% Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bajja e Yerusaalemi emyezi mwenda ko ennaku abiri nga giyiseewo. 10S2A024.009 And Joab gave up the sum of the number of the people unto the king: and there were in Israel eight hundred thousand valiant men that drew the sword; and the men of Judah were five hundred thousand men. %%% Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu gwe babaze: era waaliwo mu Isiraeri abasajja abazira obusiriivu munaana abaasowolanga ebitala; n'abasajja ba Yuda baali abasajja obusiriivu butaano. 10S2A024.010 And David's heart smote him after that he had numbered the people. And David said unto the LORD, I have sinned greatly in that I have done: and now, I beseech thee, O LORD, take away the iniquity of thy servant; for I have done very foolishly. %%% Awo omwoyo ne guluma Dawudi bwe yamala okubala abantu. Dawudi n'agamba Mukama nti Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze: naye kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo. 10S2A024.011 For when David was up in the morning, the word of the LORD came unto the prophet Gad, David's seer, saying, %%% Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'ayogera nti 10S2A024.012 Go and say unto David, Thus saith the LORD, I offer thee three things; choose thee one of them, that I may do it unto thee. %%% Genda ogambe Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkuteekeddewo bino bisatu; weerobozeeko ekimu nkukikole. 10S2A024.013 So Gad came to David, and told him, and said unto him, Shall seven years of famine come unto thee in thy land? or wilt thou flee three months before thine enemies, while they pursue thee? or that there be three days' pestilence in thy land? now advise, and see what answer I shall return to him that sent me. %%% Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi n'amubuulira n'amugamba nti Emyaka egy'enjala musanvu girikujjira mu nsi yo? Oba oliddukira emyezi esatu mu maaso g'abalabe bo, bo nga bakuyigganya? oba walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? teesa nno olowooze bwe mba mmuddamu oyo antumye. 10S2A024.014 And David said unto Gad, I am in a great strait: let us fall now into the hand of the LORD; for his mercies are great: and let me not fall into the hand of man. %%% Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: tugwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi: ne ssigwa mu mukono gwa bantu. 10S2A024.015 So the LORD sent a pestilence upon Israel from the morning even to the time appointed: and there died of the people from Dan even to Beersheba seventy thousand men. %%% Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo: awo ku bantu ne kufaako abasajja obukumi musanvu okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba. 10S2A024.016 And when the angel stretched out his hand upon Jerusalem to destroy it, the LORD repented him of the evil, and said to the angel that destroyed the people, It is enough: stay now thine hand. And the angel of the LORD was by the threshingplace of Araunah the Jebusite. %%% Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi. 10S2A024.017 And David spake unto the LORD when he saw the angel that smote the people, and said, Lo, I have sinned, and I have done wickedly: but these sheep, what have they done? let thine hand, I pray thee, be against me, and against my father's house. %%% Awo Dawudi n'agamba Mukama bwe yalaba malayika eyalwaza abantu n'ayogera nti Laba, nze nnyonoonye, era nze nkoze eby'obubambaavu: naye endiga zino, bakoze ki bo? nkwegayiridde, omukono gwo gulwane nange n'ennyumba ya kitange. 10S2A024.018 And Gad came that day to David, and said unto him, Go up, rear an altar unto the LORD in the threshingfloor of Araunah the Jebusite. %%% Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi ku lunaku olwo n'amugamba nti Yambuka ozimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Alawuna Omuyebusi. 10S2A024.019 And David, according to the saying of Gad, went up as the LORD commanded. %%% Awo Dawudi n'ayambuka nga Gaadi bwe yayogera nga Mukama bwe yalagira. 10S2A024.020 And Araunah looked, and saw the king and his servants coming on toward him: and Araunah went out, and bowed himself before the king on his face upon the ground. %%% Awo Alawuna n'atunula n'alaba kabaka n'abaddu be nga bajja nga bamusemberera: Alawuna n'afuluma n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka. 10S2A024.021 And Araunah said, Wherefore is my lord the king come to his servant? And David said, To buy the threshingfloor of thee, to build an altar unto the LORD, that the plague may be stayed from the people. %%% Awo Alawuna n'ayogera nti Mukama wange kabaka ajjiridde ki eri omuddu we? Dawudi n'ayogera nti Okugulaana naawe egguuliro; okuzimbira Mukama ekyoto, kawumpuli aziyizibwe mu bantu. 10S2A024.022 And Araunah said unto David, Let my lord the king take and offer up what seemeth good unto him: behold, here be oxen for burnt sacrifice, and threshing instruments and other instruments of the oxen for wood. %%% Alawuna n'agamba Dawudi nti Mukama wange kabaka atwale aweeyo by'anaasiima byonna: laba, ente ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebintu ebiwuula n'amatandiiko g'ente okuba enku: 10S2A024.023 All these things did Araunah, as a king, give unto the king. And Araunah said unto the king, The LORD thy God accept thee. %%% bino byonna, ai kabaka, Alawuna abiwa kabaka. Alawuna n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo akukkirize. 10S2A024.024 And the king said unto Araunah, Nay; but I will surely buy it of thee at a price: neither will I offer burnt offerings unto the LORD my God of that which doth cost me nothing. So David bought the threshingfloor and the oxen for fifty shekels of silver. %%% Kabaka n'agamba Alawuna nti Nedda; naye n'aligulaana naawe n'ebintu; so siiweeyo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange ebitanzitidde byange. Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ne sekeri eza ffeeza ataano. 10S2A024.025 And David built there an altar unto the LORD, and offered burnt offerings and peace offerings. So the LORD was intreated for the land, and the plague was stayed from Israel. %%% Awo Dawudi n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Mukama ne yeegayiririrwa ensi, kawumpuli n'aziyizibwa mu Isiraeri. 11K1I001.001 Now king David was old and stricken in years; and they covered him with clothes, but he gat no heat. %%% Awo kabaka Dawudi yali mukadde era ng'akootakoota; ne bamubikkako ebyambalo, naye n'atafuna lubugumu. 11K1I001.002 Wherefore his servants said unto him, Let there be sought for my lord the king a young virgin: and let her stand before the king, and let her cherish him, and let her lie in thy bosom, that my lord the king may get heat. %%% Abaddu be kyebaava bamugamba nti Banoonyeze mukama wange kabaka omuwala omuto atamanyi musajja: ayimirirenga mu maaso ga kabaka, amuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka afune olubugumu. 11K1I001.003 So they sought for a fair damsel throughout all the coasts of Israel, and found Abishag a Shunammite, and brought her to the king. %%% Awo ne banoonya omuwala omulungi okubuna ensalo zonna eza Isiraeri, ne balaba Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. 11K1I001.004 And the damsel was very fair, and cherished the king, and ministered to him: but the king knew her not. %%% Awo omuwala yali mulungi nnyo; n'aweerezanga kabaka n'amujjanjabanga; naye kabaka n'atamumanya. 11K1I001.005 Then Adonijah the son of Haggith exalted himself, saying, I will be king: and he prepared him chariots and horsemen, and fifty men to run before him. %%% Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi ne yeegulumiza ng'ayogera nti Nze ndiba kabaka: ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge. 11K1I001.006 And his father had not displeased him at any time in saying, Why hast thou done so? and he also was a very goodly man; and his mother bare him after Absalom. %%% So kitaawe yali tamunyiizanga n'akatono ng'ayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo? era yali musajja mulungi nnyo; era ye yaddanga ku Abusaalomu. 11K1I001.007 And he conferred with Joab the son of Zeruiah, and with Abiathar the priest: and they following Adonijah helped him. %%% N'ateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona: abo ne bamugoberera; Adoniya ne bamuyamba. 11K1I001.008 But Zadok the priest, and Benaiah the son of Jehoiada, and Nathan the prophet, and Shimei, and Rei, and the mighty men which belonged to David, were not with Adonijah. %%% Naye Zadooki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ne Nasani nnabbi ne Simeeyi ne Leeyi n'abasajja ab'amaanyi aba Dawudi tebaali ne Adoniya. 11K1I001.009 And Adonijah slew sheep and oxen and fat cattle by the stone of Zoheleth, which is by Enrogel, and called all his brethren the king's sons, and all the men of Judah the king's servants: %%% Adoniya n'attira endiga n'ente n'ebya ssava awali ejjinja Zokeresi eririraanye e Enerogeri: n'ayita baganda be bonna abaana ba kabaka, n'abasajja ba Yuda bonna abaddu ba kabaka: 11K1I001.010 But Nathan the prophet, and Benaiah, and the mighty men, and Solomon his brother, he called not. %%% naye Nasani nnabbi ne Benaya n'abasajja ab'amaanyi ne Sulemaani muganda we n'atabayita. 11K1I001.011 Wherefore Nathan spake unto Bathsheba the mother of Solomon, saying, Hast thou not heard that Adonijah the son of Haggith doth reign, and David our lord knoweth it not? %%% Awo Nasani n'agamba Basuseba nnyina Sulemaani ng'ayogera nti Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 11K1I001.012 Now therefore come, let me, I pray thee, give thee counsel, that thou mayest save thine own life, and the life of thy son Solomon. %%% Kale nno jjangu, nkwegayiridde, nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo ggwe n'obulamu bwa mutabani wo Sulemaani. 11K1I001.013 Go and get thee in unto king David, and say unto him, Didst not thou, my lord, O king, swear unto thine handmaid, saying, Assuredly Solomon thy son shall reign after me, and he shall sit upon my throne? why then doth Adonijah reign? %%% Genda oyingire eri kabaka Dawudi, omugambe nti Mukama wange, ai kabaka, tewalayirira muzaana wo nti Sulemaani mutabani wo talirema kulya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange? kale kiki ekimuliisizza obwakabaka Adoniya? 11K1I001.014 Behold, while thou yet talkest there with the king, I also will come in after thee, and confirm thy words. %%% Awo, laba, bw'onooba ng'okyayogera eyo ne kabaka, nange naayingira oluvannyuma lwo, ne nnyweza ebigambo byo. 11K1I001.015 And Bathsheba went in unto the king into the chamber: and the king was very old; and Abishag the Shunammite ministered unto the king. %%% Awo Basuseba n'ayingira eri kabaka mu kisenge: era kabaka yali mukadde nnyo; ne Abisaagi Omusunammu yaweerezanga kabaka. 11K1I001.016 And Bathsheba bowed, and did obeisance unto the king. And the king said, What wouldest thou? %%% Awo Basuseba n'akutama n'avuunamira kabaka. Kabaka n'ayogera nti Oyagala ki? 11K1I001.017 And she said unto him, My lord, thou swarest by the LORD thy God unto thine handmaid, saying, Assuredly Solomon thy son shall reign after me, and he shall sit upon my throne. %%% N'amugamba nti Mukama wange, walayira Mukama Katonda wo eri omuzaana wo nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka: oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange. 11K1I001.018 And now, behold, Adonijah reigneth; and now, my lord the king, thou knowest it not: %%% Kale nno, laba, Adoniya yalidde obwakabaka; naawe, mukama wange kabaka, tokimanyi: 11K1I001.019 And he hath slain oxen and fat cattle and sheep in abundance, and hath called all the sons of the king, and Abiathar the priest, and Joab the captain of the host: but Solomon thy servant hath he not called. %%% era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu omukulu w'eggye: naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. 11K1I001.020 And thou, my lord, O king, the eyes of all Israel are upon thee, that thou shouldest tell them who shall sit on the throne of my lord the king after him. %%% Naawe, mukama wange kabaka, amaaso ga Isiraeri yenna gali ku ggwe obabuulire alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka oluvannyuma lwe: 11K1I001.021 Otherwise it shall come to pass, when my lord the king shall sleep with his fathers, that I and my son Solomon shall be counted offenders. %%% Bw'otookole bw'otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw'alyebakira awamu ne bajjajjaabe, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa aboonoonyi. 11K1I001.022 And, lo, while she yet talked with the king, Nathan the prophet also came in. %%% Kale, laba, bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n'ayingira. 11K1I001.023 And they told the king, saying, Behold Nathan the prophet. And when he was come in before the king, he bowed himself before the king with his face to the ground. %%% Ne babuulira kabaka nti Laba, Nasani nnabbi. Awo bwe yayingira mu maaso ga kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka. 11K1I001.024 And Nathan said, My lord, O king, hast thou said, Adonijah shall reign after me, and he shall sit upon my throne? %%% Nasani n'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, wayogera nti Adoniya ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange? 11K1I001.025 For he is gone down this day, and hath slain oxen and fat cattle and sheep in abundance, and hath called all the king's sons, and the captains of the host, and Abiathar the priest; and, behold, they eat and drink before him, and say, God save king Adonijah. %%% Kubanga aserengese leero, era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye ne Abisaayi kabona; era, laba, balya era banywera mu maaso ge, nga boogera nti kabaka Adoniya abeere omulamu. 11K1I001.026 But me, even me thy servant, and Zadok the priest, and Benaiah the son of Jehoiada, and thy servant Solomon, hath he not called. %%% Naye nze, nze omuddu wo, ne Zadooki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'omuddu wo Sulemaani tatuyise. 11K1I001.027 Is this thing done by my lord the king, and thou hast not shewed it unto thy servant, who should sit on the throne of my lord the king after him? %%% Ekigambo ekyo kikoleddwa mukama wange kabaka, n'ototegeeza baddu bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka oluvannyuma lwe? 11K1I001.028 Then king David answered and said, Call me Bathsheba. And she came into the king's presence, and stood before the king. %%% Awo kabaka Dawudi n'addamu n'agamba nti Mpitira Basuseba. N'ajja awali kabaka n'ayimirira mu maaso ga kabaka. 11K1I001.029 And the king sware, and said, As the LORD liveth, that hath redeemed my soul out of all distress, %%% Kabaka n'alayira n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange okugiggya mu kabi konna, 11K1I001.030 Even as I sware unto thee by the LORD God of Israel, saying, Assuredly Solomon thy son shall reign after me, and he shall sit upon my throne in my stead; even so will I certainly do this day. %%% mazima nga bwe nnakulayirira Mukama, Katonda wa Isiraeri, nga njogera nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange mu kifo kyange; mazima bwe ntyo bwe nnaakola leero. 11K1I001.031 Then Bathsheba bowed with her face to the earth, and did reverence to the king, and said, Let my lord king David live for ever. %%% Awo Basuseba n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza kabaka, n'ayogera nti Mukama wange kabaka Dawudi abeere omulamu ennaku zonna. 11K1I001.032 And king David said, Call me Zadok the priest, and Nathan the prophet, and Benaiah the son of Jehoiada. And they came before the king. %%% Kabaka Dawudi n'ayogera nti Mpitira Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada. Ne bajja mu maaso ga kabaka. 11K1I001.033 The king also said unto them, Take with you the servants of your lord, and cause Solomon my son to ride upon mine own mule, and bring him down to Gihon: %%% Kabaka n'abagamba nti Mutwale wamu nammwe abaddu ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange nze, mumuserengese e Gikoni: 11K1I001.034 And let Zadok the priest and Nathan the prophet anoint him there king over Israel: and blow ye with the trumpet, and say, God save king Solomon. %%% kale Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: mufuuwe ekkondeere mwogere nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu. 11K1I001.035 Then ye shall come up after him, that he may come and sit upon my throne; for he shall be king in my stead: and I have appointed him to be ruler over Israel and over Judah. %%% Ne mulyoka mwambuka nga mumugoberera, naye anajja n'atuula ku ntebe yange; kubanga ye anaaba kabaka mu kifo kyange: era mmutaddewo okuba omukulu wa Isirarei ne Yuda. 11K1I001.036 And Benaiah the son of Jehoiada answered the king, and said, Amen: the LORD God of my lord the king say so too. %%% Benaya mutabani wa Yekoyaada n'addamu kabaka n'ayogera nti Amiina: Mukama, Katonda wa mukama wange kabaka, ayogere bw'atyo. 11K1I001.037 As the LORD hath been with my lord the king, even so be he with Solomon, and make his throne greater than the throne of my lord king David. %%% Nga Mukama bwe yabanga ne mukama wange kabaka, era abeerenga ne Sulemaani, afuule entebe ye enkulu okusinga entebe ya mukama wange kabaka Dawudi. 11K1I001.038 So Zadok the priest, and Nathan the prophet, and Benaiah the son of Jehoiada, and the Cherethites, and the Pelethites, went down, and caused Solomon to ride upon king David's mule, and brought him to Gihon. %%% Awo Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka Dawudi, ne bamuleeta e Gikoni. 11K1I001.039 And Zadok the priest took an horn of oil out of the tabernacle, and anointed Solomon. And they blew the trumpet; and all the people said, God save king Solomon. %%% Awo Zadooki kabona n'aggya ejjembe ery'amafuta mu Weema, n'afuka amafuta ku Sulemaani. Ne bafuuwa ekkondeere; abantu bonna ne boogera nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu. 11K1I001.040 And all the people came up after him, and the people piped with pipes, and rejoiced with great joy, so that the earth rent with the sound of them. %%% Abantu bonna ne bambuka okumugoberera, abantu ne bafuuwa endere, ne basanyuka essanyu lingi, ettaka n'okwatika ne lyatika olw'oluyoogaano lwabwe. 11K1I001.041 And Adonijah and all the guests that were with him heard it as they had made an end of eating. And when Joab heard the sound of the trumpet, he said, Wherefore is this noise of the city being in an uproar? %%% Adoniya n'abagenyi bonna abaali naye ne baluwulira bwe baali nga bamala okulya. Awo Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'ayogera nn Eddoboozi lino ekibuga nga kiyoogaana lya ki? 11K1I001.042 And while he yet spake, behold, Jonathan the son of Abiathar the priest came; and Adonijah said unto him, Come in; for thou art a valiant man, and bringest good tidings. %%% Bwe yali ng'akyayogera, laba, Yonasaani mutabani wa Abyasaali kabona n'ajja: Adoniya n'ayogera nti Yingira; kubanga oli musajja mulungi, era oleese ebigambo ebirungi. 11K1I001.043 And Jonathan answered and said to Adonijah, Verily our lord king David hath made Solomon king. %%% Yonasaani n'addamu n'agamba Adoniya nti Mazima mukama waffe kabaka Dawudi afudde Sulemaani kabaka: 11K1I001.044 And the king hath sent with him Zadok the priest, and Nathan the prophet, and Benaiah the son of Jehoiada, and the Cherethites, and the Pelethites, and they have caused him to ride upon the king's mule: %%% era kabaka atumye naye Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi, era bamwebagazizza ennyumbu ya kabaka: 11K1I001.045 And Zadok the priest and Nathan the prophet have anointed him king in Gihon: and they are come up from thence rejoicing, so that the city rang again. This is the noise that ye have heard. %%% era Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni: era bambuse okuvaayo nga basanyuka n'okuwuuma ekibuga ne kiwuumira ddala. Eryo lye ddoboozi lye muwulidde. 11K1I001.046 And also Solomon sitteth on the throne of the kingdom. %%% Era Sulemaani atudde ku ntebe y'obwakabaka. 11K1I001.047 And moreover the king's servants came to bless our lord king David, saying, God make the name of Solomon better than thy name, and make his throne greater than thy throne. And the king bowed himself upon the bed. %%% Era nate abaddu ba kabaka bazze okusabira mukama waffe kabaka Dawudi nga boogera nti Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani eddungi okusinga erinnya lyo, era afuule entebe ye enkulu okusinga entebe yo: kabaka n'akutamira ku kitanda kye. 11K1I001.048 And also thus said the king, Blessed be the LORD God of Israel, which hath given one to sit on my throne this day, mine eyes even seeing it. %%% Era bw'ati kabaka bw'ayogedde nti Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, awadde leero ow'okutuula ku ntebe yange, amaaso gange nga gakiraba n'okulaba. 11K1I001.049 And all the guests that were with Adonijah were afraid, and rose up, and went every man his way. %%% Awo abagenyi ba Adoniya bonna ne batya, ne bagolokoka, ne bagenda buli muntu ewuwe. 11K1I001.050 And Adonijah feared because of Solomon, and arose, and went, and caught hold on the horns of the altar. %%% Adoniya n'atekemuka olwa Sulemaani; n'agolokoka n'agenda n'akwata ku mayembe g'ekyoto. 11K1I001.051 And it was told Solomon, saying, Behold, Adonijah feareth king Solomon: for, lo, he hath caught hold on the horns of the altar, saying, Let king Solomon swear unto me today that he will not slay his servant with the sword. %%% Ne babuulira Sulemaani nti Laba, Adoniya atekemukidde kabaka Sulemaani: kubanga, laba, akutte ku mayembe g'ekyoto, ng'ayogera nti Kabaka Sulemaani andayirire leero nga tajja kutta muddu we n'ekitala. 11K1I001.052 And Solomon said, If he will shew himself a worthy man, there shall not an hair of him fall to the earth: but if wickedness shall be found in him, he shall die. %%% Sulemaani n'ayogera nti Bw'alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe oluligwa wansi: naye obubi bwe bulirabika ku ye, alifa. 11K1I001.053 So king Solomon sent, and they brought him down from the altar. And he came and bowed himself to king Solomon: and Solomon said unto him, Go to thine house. %%% Awo kabaka Sulemaani n'atuma, ne bamuserengesa okuva ku kyoto. N'ajja n'avuunamira kabaka Sulemaani: Sulemaani n'amugamba nti Genda ewuwo. 11K1I002.001 Now the days of David drew nigh that he should die; and he charged Solomon his son, saying, %%% Awo ennaku za Dawudi ne ziba nga zinaatera okutuuka afe; n'akuutira Sulemaani mutabani we ng'ayogera nti 11K1I002.002 I go the way of all the earth: be thou strong therefore, and shew thyself a man; %%% Nze ŋŋenda bonna ab'omu nsi gye bagenda: kale beera n’amaanyi weerage obusajja; 11K1I002.003 And keep the charge of the LORD thy God, to walk in his ways, to keep his statutes, and his commandments, and his judgments, and his testimonies, as it is written in the law of Moses, that thou mayest prosper in all that thou doest, and whithersoever thou turnest thyself: %%% era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge; okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, ng'ebyo bwe biri ebyawandiiltibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'okola, na buli gy'onookyukiranga: 11K1I002.004 That the LORD may continue his word which he spake concerning me, saying, If thy children take heed to their way, to walk before me in truth with all their heart and with all their soul, there shall not fail thee (said he) a man on the throne of Israel. %%% Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu maaso gange mu mazima n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna, tewaakubulenga (bw'atyo bwe yayogera) omusajja ku ntebe ya Isiraeri. 11K1I002.005 Moreover thou knowest also what Joab the son of Zeruiah did to me, and what he did to the two captains of the hosts of Israel, unto Abner the son of Ner, and unto Amasa the son of Jether, whom he slew, and shed the blood of war in peace, and put the blood of war upon his girdle that was about his loins, and in his shoes that were on his feet. %%% Nate omanyi n'ekyo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, kye yakola abakulu ababiri ab'eggye lya Isiraeri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri, be yatta n'ayiwa omusaayi ogw'omu ntalo mu mirembe, n'asiiga omusaayi ogw'omu ntalo ku lukoba lwe lwe yali yeesibye mu kiwato ne mu ngatto ze ezaali mu bigere bye. 11K1I002.006 Do therefore according to thy wisdom, and let not his hoar head go down to the grave in peace. %%% Kale mukole ng'amagezi go bwe gali, so toganyanga mutwe gwe oguliko envi kukka emagombe mirembe. 11K1I002.007 But shew kindness unto the sons of Barzillai the Gileadite, and let them be of those that eat at thy table: for so they came to me when I fled because of Absalom thy brother. %%% Naye okolanga bulungi batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi, era babenga ku abo abanaalyanga ku mmeeza yo: kubanga bajja gye ndi bwe batyo bwe nnadduka Abusaalomu muganda wo. 11K1I002.008 And, behold, thou hast with thee Shimei the son of Gera, a Benjamite of Bahurim, which cursed me with a grievous curse in the day when I went to Mahanaim: but he came down to meet me at Jordan, and I sware to him by the LORD, saying, I will not put thee to death with the sword. %%% Era, laba, waliwo naawe Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow'e Bakulimu, eyankolimira ekikolimo ekizibu ku lunaku kwe nnagendera e Makanayimu: naye n'aserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira Mukama nga njogera nti Sijja kukutta na kitala. 11K1I002.009 Now therefore hold him not guiltless: for thou art a wise man, and knowest what thou oughtest to do unto him; but his hoar head bring thou down to the grave with blood. %%% Kale nno tomuyitanga ataliiko musango, kubanga oli musajja wa magezi; era olimanya ebikugwanira okumukola, n'omutwe gwe oguliko envi oligussa emagombe n'omusaayi. 11K1I002.010 So David slept with his fathers, and was buried in the city of David. %%% Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi. 11K1I002.011 And the days that David reigned over Israel were forty years: seven years reigned he in Hebron, and thirty and three years reigned he in Jerusalem. %%% N'ennaku Dawudi ze yafugira Isiraeri zaali emyaka amakumi ana: yafugira emyaka musanvu e Kebbulooni, n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi. 11K1I002.012 Then sat Solomon upon the throne of David his father; and his kingdom was established greatly. %%% Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Dawudi kitaawe; obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo. 11K1I002.013 And Adonijah the son of Haggith came to Bathsheba the mother of Solomon. And she said, Comest thou peaceably? And he said, Peaceably. %%% Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi n'ajja eri Basuseba nnyina Sulemaani. N'ayogera nti Ojja mirembe? N'ayogera nti Mirembe. 11K1I002.014 He said moreover, I have somewhat to say unto thee. And she said, Say on. %%% Nate n'ayogera nti Ndiko kye njagala okukubuulira: N'ayogera nti Mbuulira. 11K1I002.015 And he said, Thou knowest that the kingdom was mine, and that all Israel set their faces on me, that I should reign: howbeit the kingdom is turned about, and is become my brother's: for it was his from the LORD. %%% N'ayogera nti Omanyi ng'obwakabaka bwali bwange, Isiraeri yenna ne bakaliriza amaaso gaabwe ku nze nze mbulye: naye obwakabaka bukyuse ne bufuuka bwa muganda wange: kubanga bwali bubwe okuva eri Mukama. 11K1I002.016 And now I ask one petition of thee, deny me not. And she said unto him, Say on. %%% Kale nno nkusaba ekigambo kimu, tonnyima. N'amugamba nti Yogera. 11K1I002.017 And he said, Speak, I pray thee, unto Solomon the king, (for he will not say thee nay,) that he give me Abishag the Shunammite to wife. %%% N'ayogera nti Nkwegayiridde; gamba Sulemaani kabaka, (kubanga taakumme,) ampe Abisaagi Omusunammu mmufumbirwe. 11K1I002.018 And Bathsheba said, Well; I will speak for thee unto the king. %%% Awo Basuseba n'ayogera nti Kale; naakwogererayo eri kabaka. 11K1I002.019 Bathsheba therefore went unto king Solomon, to speak unto him for Adonijah. And the king rose up to meet her, and bowed himself unto her, and sat down on his throne, and caused a seat to be set for the king's mother; and she sat on his right hand. %%% Basuseba kyeyava agenda eri kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya. Kabaka n'agolokoka okumusisinkana, n'amuvuunamira, n'atuula ku ntebe ye, n'ateesesaawo nnyina entebe; n'atuula ku mukono gwe ogwa ddyo. 11K1I002.020 Then she said, I desire one small petition of thee; I pray thee, say me not nay. And the king said unto her, Ask on, my mother: for I will not say thee nay. %%% Awo n'ayogera nti Nkusaba ekigambo kimu ekitono; tonnyima. Kabaka n'amugamba nti Saba, mmange; kubanga siikumme. 11K1I002.021 And she said, Let Abishag the Shunammite be given to Adonijah thy brother to wife. %%% N'ayogera nti Abisaagi Omusunammu aweebwe Adoniya muganda wo okumufumbirwa. 11K1I002.022 And king Solomon answered and said unto his mother, And why dost thou ask Abishag the Shunammite for Adonijah? ask for him the kingdom also; for he is mine elder brother; even for him, and for Abiathar the priest, and for Joab the son of Zeruiah. %%% Kabaka Sulemaani n'addamu n'agamba nnyina nti Era kiki ekikusabya Abisaagi Omusunammu olwa Adoniya? musabire n'obwakabaka; kubanga ye muganda wange omukulu; sabira ye ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya. 11K1I002.023 Then king Solomon sware by the LORD, saying, God do so to me, and more also, if Adonijah have not spoken this word against his own life. %%% Awo kabaka Sulemaani n'alayira Mukama nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga Adoniya tayogedde kigambo ekyo kya kumussa. 11K1I002.024 Now therefore, as the LORD liveth, which hath established me, and set me on the throne of David my father, and who hath made me an house, as he promised, Adonijah shall be put to death this day. %%% Kale nno nga Mukama bw'ali omulamu, annywezezza n'antuuza ku ntebe ya Dawudi kitange, era ampadde ennyumba, nga bwe yasuubiza, mazima Adoniya anattibwa leero. 11K1I002.025 And king Solomon sent by the hand of Benaiah the son of Jehoiada; and he fell upon him that he died. %%% Awo kabaka Sulemaani n'atuma mu mukono gwa Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'amugwako n'okufa n'afa. 11K1I002.026 And unto Abiathar the priest said the king, Get thee to Anathoth, unto thine own fields; for thou art worthy of death: but I will not at this time put thee to death, because thou barest the ark of the LORD God before David my father, and because thou hast been afflicted in all wherein my father was afflicted. %%% Kabaka n'agamba Abiyasaali kabona nti Genda e Anasosi mu byalo byo ggwe; kubanga osaanidde okufa: naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama Katonda mu maaso ga Dawudi kitange, era kubanga wabonyaabonyezebwa mu byonna ebyabonyabonya kitange. 11K1I002.027 So Solomon thrust out Abiathar from being priest unto the LORD; that he might fulfil the word of the LORD, which he spake concerning the house of Eli in Shiloh. %%% Awo Sulemaani n'agoba Abiyasaali obutaba kabona eri Mukama; atuukirize ekigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Eri mu Siiro. 11K1I002.028 Then tidings came to Joab: for Joab had turned after Adonijah, though he turned not after Absalom. And Joab fled unto the tabernacle of the LORD, and caught hold on the horns of the altar. %%% Ebigambo ebyo ne bituuka eri Yowaabu: kubanga Yowaabu yali akyuse okugoberera Adoniya, newakubadde nga teyagoberera Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, n'akwata ku mayembe g'ekyoto. 11K1I002.029 And it was told king Solomon that Joab was fled unto the tabernacle of the LORD; and, behold, he is by the altar. Then Solomon sent Benaiah the son of Jehoiada, saying, Go, fall upon him. %%% Ne babuulira kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era laba, ali ku kyoto. Awo Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada ng'ayogera nti Genda omugweko. 11K1I002.030 And Benaiah came to the tabernacle of the LORD, and said unto him, Thus saith the king, Come forth. And he said, Nay; but I will die here. And Benaiah brought the king word again, saying, Thus said Joab, and thus he answered me. %%% Benaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'amugamba nti Kabaka bw'ayogera bw'ati nti Fuluma. N'ayogera nti Nedda; naye naafiira wano. Benaya n'addiza kabaka ebigambo ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogedde Yowaabu, era bw'anzizeemu bw'atyo. 11K1I002.031 And the king said unto him, Do as he hath said, and fall upon him, and bury him; that thou mayest take away the innocent blood, which Joab shed, from me, and from the house of my father. %%% Awo kabaka n'amugamba nti Kola nga bw'ayogedde, omugweko omuziike; oggyewo omusaayi, Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga, ku nze ne ku nnyumba ya kitange. 11K1I002.032 And the LORD shall return his blood upon his own head, who fell upon two men more righteous and better than he, and slew them with the sword, my father David not knowing thereof, to wit, Abner the son of Ner, captain of the host of Israel, and Amasa the son of Jether, captain of the host of Judah. %%% Era Mukama alizza omusaayi gwe ku mutwe gwe ye, kubanga yagwa ku basajja babiri abaamusinga obutuukirivu n'obulungi, n'abatta n'ekitala, kitange Dawudi n'atakimanya, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Isiraeri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w'eggye lya Yuda. 11K1I002.033 Their blood shall therefore return upon the head of Joab, and upon the head of his seed for ever: but upon David, and upon his seed, and upon his house, and upon his throne, shall there be peace for ever from the LORD. %%% Bwe gutyo omusaayi gwabwe gulidda ku mutwe gwa Yowaabu ne ku mutwe gw'ezzadde lye ennaku zonna: naye eri Dawudi n'eri ezzadde lye n'eri ennyumba ye n'eri entebe ye, eribaayo emirembe ennaku zonna okuva eri Mukama. 11K1I002.034 So Benaiah the son of Jehoiada went up, and fell upon him, and slew him: and he was buried in his own house in the wilderness. %%% Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n'ayambuka n'amugwako n'amutta; ne bamuziika mu nnyumba ye ye mu ddungu. 11K1I002.035 And the king put Benaiah the son of Jehoiada in his room over the host: and Zadok the priest did the king put in the room of Abiathar. %%% Awo kabaka n'assaawo Benaya mutabani wa Yekoyaada okuba omukulu w'eggye mu kifo kye: kabaka n'assaawo Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali. 11K1I002.036 And the king sent and called for Shimei, and said unto him, Build thee an house in Jerusalem, and dwell there, and go not forth thence any whither. %%% Kabaka n'atuma n'ayita Simeeyi n'amugamba nti Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi, obeere omwo, so tovangayo okugenda yonna yonna. 11K1I002.037 For it shall be, that on the day thou goest out, and passest over the brook Kidron, thou shalt know for certain that thou shalt surely die: thy blood shall be upon thine own head. %%% Kubanga ku lunaku kw'oliviirayo n'osomoka akagga Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa: omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe. 11K1I002.038 And Shimei said unto the king, The saying is good: as my lord the king hath said, so will thy servant do. And Shimei dwelt in Jerusalem many days. %%% Simeeyi n'agamba kabaka nti Ekigambo ekyo kirungi: nga mukama wange kabaka bw'ayogedde, bw'atyo omuddu wo bw'alikola. Simeeyi n'amala ennaku nnyingi mu Yerusaalemi. 11K1I002.039 And it came to pass at the end of three years, that two of the servants of Shimei ran away unto Achish son of Maachah king of Gath. And they told Shimei, saying, Behold, thy servants be in Gath. %%% Awo olwatuuka emyaka esatu bwe gyaggwaako, abaddu ababiri aba Simeeyi ne badduka ne bajja eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w'e Gaasi. Ne babuulira Simeeyi nti Laba, abaddu bo bali e Gaasi. 11K1I002.040 And Shimei arose, and saddled his ass, and went to Gath to Achish to seek his servants: and Shimei went, and brought his servants from Gath. %%% Simeeyi n'agolokoka n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be: Simeeyi n'agenda n'akima abaddu be e Gaasi. 11K1I002.041 And it was told Solomon that Shimei had gone from Jerusalem to Gath, and was come again. %%% Ne babuulira Sulemaani nga Simeeyi yagenda e Gaasi okuva e Yerusaalemi era ng'akomyewo. 11K1I002.042 And the king sent and called for Shimei, and said unto him, Did I not make thee to swear by the LORD, and protested unto thee, saying, Know for a certain, on the day thou goest out, and walkest abroad any whither, that thou shalt surely die? and thou saidst unto me, The word that I have heard is good. %%% Kabaka n'atuma n'ayita Simeeyi n'amugamba nti Saakulayiza Mukama ne nkutegeereza ddala nga njogera nti Tegeerera ddala nga ku lunaku kw'oliviirayo n'otambula okugenda yonna yonna, tolirema kufa? n'oŋŋamba nti Ekigambo kye mpulidde kirungi. 11K1I002.043 Why then hast thou not kept the oath of the LORD, and the commandment that I have charged thee with? %%% Kale kiki ekikulobedde okwekuuma ekirayiro kya Mukama n'ekiragiro kye nnakulagira? 11K1I002.044 The king said moreover to Shimei, Thou knowest all the wickedness which thine heart is privy to, that thou didst to David my father: therefore the LORD shall return thy wickedness upon thine own head; %%% Era kabaka n'agamba Simeeyi nti Omanyi obubi bwonna omutima gwo bwe gutegeera, bwe wakola Dawudi kitange: Mukama kyaliva azza obubi bwo ku mutwe gwo ggwe. 11K1I002.045 And king Solomon shall be blessed, and the throne of David shall be established before the LORD for ever. %%% Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, n'entebe ya Dawudi erinywezebwa mu maaso ga Mukama ennaku zonna. 11K1I002.046 So the king commanded Benaiah the son of Jehoiada; which went out, and fell upon him, that he died. And the kingdom was established in the hand of Solomon. %%% Awo kabaka n'alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'afuluma n'amugwako n'okufa n'afa. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani. 11K1I003.001 And Solomon made affinity with Pharaoh king of Egypt, and took Pharaoh's daughter, and brought her into the city of David, until he had made an end of building his own house, and the house of the LORD, and the wall of Jerusalem round about. %%% Awo Sulemaani n'abeera mukoddomi wa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'atwala muwala wa Falaawo, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye ye, n'ennyumba ya Mukama, ne bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna. 11K1I003.002 Only the people sacrificed in high places, because there was no house built unto the name of the LORD, until those days. %%% Kyokka abantu ne baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga tewaali nnyumba eyazimbirwa erinnya lya Mukama okutuusa ku biro ebyo. 11K1I003.003 And Solomon loved the LORD, walking in the statutes of David his father: only he sacrificed and burnt incense in high places. %%% Sulemaani n'ayagala Mukama, ng'atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe: kyokka yaweerangayo ssaddaaka era yayokeranga obubaane ku bifo ebigulumivu. 11K1I003.004 And the king went to Gibeon to sacrifice there; for that was the great high place: a thousand burnt offerings did Solomon offer upon that altar. %%% Awo kabaka n'agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka; kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: Sulemaani n'aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. 11K1I003.005 In Gibeon the LORD appeared to Solomon in a dream by night: and God said, Ask what I shall give thee. %%% Mukama n'alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n'ayogera nti Saba kye mba nkuwa. 11K1I003.006 And Solomon said, Thou hast shewed unto thy servant David my father great mercy, according as he walked before thee in truth, and in righteousness, and in uprightness of heart with thee; and thou hast kept for him this great kindness, that thou hast given him a son to sit on his throne, as it is this day. %%% Sulemaani n'ayogera nti Wamukola bulungi nnyo omuddu wo Dawudi kitange, nga bwe yatambula mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu ne mu bugolokofu bw'omutima wamu naawe; era wamuterekera ekisa kino ekinene kubanga omuwadde omwana ow'okutuula ku ntebe ye, nga bwe kiri leero. 11K1I003.007 And now, O LORD my God, thou hast made thy servant king instead of David my father: and I am but a little child: I know not how to go out or come in. %%% Era nno, ai Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira. 11K1I003.008 And thy servant is in the midst of thy people which thou hast chosen, a great people, that cannot be numbered nor counted for multitude. %%% Era omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga eddene, eritayinzika kubalibwa newakubadde okugattibwa obungi. 11K1I003.009 Give therefore thy servant an understanding heart to judge thy people, that I may discern between good and bad: for who is able to judge this thy so great a people? %%% Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy'abantu bo, njawulemu ebirungi n'ebibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy'eggwanga lyo lino ekkulu? 11K1I003.010 And the speech pleased the LORD, that Solomon had asked this thing. %%% Awo ebigambo ebyo ne bisanyusa Mukama, kubanga Sulemaani asabye ekyo. 11K1I003.011 And God said unto him, Because thou hast asked this thing, and hast not asked for thyself long life; neither hast asked riches for thyself, nor hast asked the life of thine enemies; but hast asked for thyself understanding to discern judgment; %%% Katonda n'amugamba nti Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala; so teweesabidde bugagga, so teweesabidde bulamu bwa balabe bo: naye weesabidde obutegeevu okwawulamu emisango: 11K1I003.012 Behold, I have done according to thy words: lo, I have given thee a wise and an understanding heart; so that there was none like thee before thee, neither after thee shall any arise like unto thee. %%% laba, nkoze ng'ekigambo kyo bwe kiri: laba, nkuwadde omutima omugezigezi era omutegeevu; obutabangawo akwenkana okusooka ggwe, so n'oluvannyuma lwo tewaligolokoka akwenkana. 11K1I003.013 And I have also given thee that which thou hast not asked, both riches, and honour: so that there shall not be any among the kings like unto thee all thy days. %%% Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye, obugagga n'ekitiibwa, obutabangawo mu bakabaka n'omu akwenkana ennaku zo zonna. 11K1I003.014 And if thou wilt walk in my ways, to keep my statutes and my commandments, as thy father David did walk, then I will lengthen thy days. %%% Era bw'onootambuliranga mu makubo gange, okukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yatambula, awo ndyongera ku nnaku zo. 11K1I003.015 And Solomon awoke; and, behold, it was a dream. And he came to Jerusalem, and stood before the ark of the covenant of the LORD, and offered up burnt offerings, and offered peace offerings, and made a feast to all his servants. %%% Awo Sulemaani n'azuukuka, era, laba, kyali kirooto: n'ajja e Yerusaalemi n'ayimirira mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'awaayo ebiweebwayo olw'emirembe, n'afumbira abaddu be bonna embaga. 11K1I003.016 Then came there two women, that were harlots, unto the king, and stood before him. %%% Awo ne wajja eri kabaka abakazi babiri, abaali abenzi, ne bayimirira mu maaso ge. 11K1I003.017 And the one woman said, O my lord, I and this woman dwell in one house; and I was delivered of a child with her in the house. %%% Omukazi omu n'ayogera nti Ai mukama wange, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu; nazaala omwana nga ndi wamu naye mu nnyumba. 11K1I003.018 And it came to pass the third day after that I was delivered, that this woman was delivered also: and we were together; there was no stranger with us in the house, save we two in the house. %%% Awo olwatuuka nga naakamaze ennaku ssatu okuzaala, omukazi ono n'azaala naye; era twali wamu; tewaali mugenyi wamu naffe mu nnyumba, wabula ffe fembi mu nnyumba. 11K1I003.019 And this woman's child died in the night; because she overlaid it. %%% Awo omwana w'omukazi ono n'afa ekiro; kubanga yamwebakira. 11K1I003.020 And she arose at midnight, and took my son from beside me, while thine handmaid slept, and laid it in her bosom, and laid her dead child in my bosom. %%% N'agolokoka mu ttumbi n'aggya omwana wange mu mbiriizi zange, omuzaana wo nga yeebase, n'amuteeka mu kifuba kye, n'ateeka omwana we afudde mu kifuba kyange. 11K1I003.021 And when I rose in the morning to give my child suck, behold, it was dead: but when I had considered it in the morning, behold, it was not my son, which I did bear. %%% Awo bwe nnagolokoka enkya okuyonsa omwana wange, laba, ng'afudde: naye bwe nnakifumiitiriza enkya, laba, nga si ye mwana wange gwe nnazaala. 11K1I003.022 And the other woman said, Nay; but the living is my son, and the dead is thy son. And this said, No; but the dead is thy son, and the living is my son. Thus they spake before the king. %%% Omukazi omulala n'ayogera nti Nedda; naye omulamu ye mwana wange, n'omufu ye mwana wo. N'ono n'ayogera nti Nedda; naye omufu ye mwana wo, n'omulamu ye mwana wange. Bwe batyo bwe baayogera mu maaso ga kabaka. 11K1I003.023 Then said the king, The one saith, This is my son that liveth, and thy son is the dead: and the other saith, Nay; but thy son is the dead, and my son is the living. %%% Awo kabaka n'ayogera nti Omu ayogera nti Ono omulamu ye mwana wange, n'omufu ye mwana wo: munne n'ayogera nti Nedda: naye omufu ye mwana wo, n'omulamu ye mwana wange. 11K1I003.024 And the king said, Bring me a sword. And they brought a sword before the king. %%% Awo kabaka n'ayogera nti Mundeetere ekitala. Ne baleeta ekitala mu maaso ga kabaka. 11K1I003.025 And the king said, Divide the living child in two, and give half to the one, and half to the other. %%% Kabaka n'ayogera nti Musaleemu omwana omulamu, muwe omu kitundu ne munne kitundu. 11K1I003.026 Then spake the woman whose the living child was unto the king, for her bowels yearned upon her son, and she said, O my lord, give her the living child, and in no wise slay it. But the other said, Let it be neither mine nor thine, but divide it. %%% Awo nnyina w'omwana omulamu n'alyoka agamba kabaka, kubanga omwoyo gwe gwalumirwa omwana we, n'ayogera nti Ai mukama wange, muwe ye omwana mulamu, so tomutta n'akamu. Naye ye omulala n'ayogera nti Taliba wange newakubadde owuwo; mumusalemu. 11K1I003.027 Then the king answered and said, Give her the living child, and in no wise slay it: she is the mother thereof. %%% Awo kabaka n'addamu n'ayogera nti Mumuwe ye omwana omulamu, so temumutta n'akamu: oyo ye nnyina. 11K1I003.028 And all Israel heard of the judgment which the king had judged; and they feared the king: for they saw that the wisdom of God was in him, to do judgment. %%% Isiaeri yenna n'awulira omusango kabaka gw'asaze; ne batya kabaka: kubanga baalaba ng'amagezi ga Katonda gali mu ye, okusalanga emisango. 11K1I004.001 So king Solomon was king over all Israel. %%% Awo kabaka Sulemaani n'aba kabaka wa Isiraeri yenna. 11K1I004.002 And these were the princes which he had; Azariah the son of Zadok the priest, %%% Era bano be bakulu be yalina; Azaliya nutabani wa Zadooki, kabona; 11K1I004.003 Elihoreph and Ahiah, the sons of Shisha, scribes; Jehoshaphat the son of Ahilud, the recorder. %%% Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, abawandiisi; Yekosafaati mutabani wa Akirudi, omujjukiza; 11K1I004.004 And Benaiah the son of Jehoiada was over the host: and Zadok and Abiathar were the priests: %%% ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'eggye; ne Zadooki ne Abiyasaali be baali bakabona; 11K1I004.005 And Azariah the son of Nathan was over the officers: and Zabud the son of Nathan was principal officer, and the king's friend: %%% ne Azaliya mutabani wa Nasani ye yali omukulu w'abaami; ne Zabudi mutabani wa Nasani ye yali abona, mukwano gwa kabaka; 11K1I004.006 And Ahishar was over the household: and Adoniram the son of Abda was over the tribute. %%% ne Akisaali ye yali saabakaaki; ne Adoniraamu mutabani wa Abuda ye yali omusolooza. 11K1I004.007 And Solomon had twelve officers over all Israel, which provided victuals for the king and his household: each man his month in a year made provision. %%% Era Sulenaani yalina abaami kkumi na babiri abaakulira Isiraeri yenna, abaalabiranga kabaka n'ab'omu nnyumba ye ebyokulya: buli muntu kyamugwanira okusolooleza omwezi gumu buli mwaka. 11K1I004.008 And these are their names: The son of Hur, in mount Ephraim: %%% Ne gano ge mannya gaabwe: Benikuli, mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu: 11K1I004.009 The son of Dekar, in Makaz, and in Shaalbim, and Bethshemesh, and Elonbethhanan: %%% Benidekeri, mu Makazi, ne mu Saalubinu ne mu Besusemesi ne mu Eronubesukanani: 11K1I004.010 The son of Hesed, in Aruboth; to him pertained Sochoh, and all the land of Hepher: %%% Benikesedi, mu Alubbosi; Soko kyali kikye, n'ensi onna ey'e Kefera: 11K1I004.011 The son of Abinadab, in all the region of Dor; which had Taphath the daughter of Solomon to wife: %%% Beniyabiyadabu, mu kifo kyonna ekigulunivu eky'e Doli; ye yafumbirwa Tafasi muwala wa Sulemaani: 11K1I004.012 Baana the son of Ahilud; to him pertained Taanach and Megiddo, and all Bethshean, which is by Zartanah beneath Jezreel, from Bethshean to Abelmeholah, even unto the place that is beyond Jokneam: %%% Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, n'e Besuseyani ekiri ku mabbali g'e Zalesani, wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola, okuyita ku Yokumeyamu: 11K1I004.013 The son of Geber, in Ramothgilead; to him pertained the towns of Jair the son of Manasseh, which are in Gilead; to him also pertained the region of Argob, which is in Bashan, threescore great cities with walls and brasen bars: %%% Benigeberi, mu Lamosugireyaadi; ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase ebiri mu Gireyaadi byali bibye; essaza Alugobu eriri mu Basani lyali lirye, ebibuga ebinene nkaaga ebyalina bbugwe n'ebisiba eby'ebikomo: 11K1I004.014 Ahinadab the son of Iddo had Mahanaim: %%% Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu: 11K1I004.015 Ahimaaz was in Naphtali; he also took Basmath the daughter of Solomon to wife: %%% Akimaazi, mu Nafutaali; naye yafumbirwa Basemasi muwala wa Sulemaani: 11K1I004.016 Baanah the son of Hushai was in Asher and in Aloth: %%% Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi: 11K1I004.017 Jehoshaphat the son of Paruah, in Issachar: %%% Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali: 11K1I004.018 Shimei the son of Elah, in Benjamin: %%% Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini: 11K1I004.019 Geber the son of Uri was in the country of Gilead, in the country of Sihon king of the Amorites, and of Og king of Bashan; and he was the only officer which was in the land. %%% Geberi mutabani wa Uli, mu nsi ya Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w'Abamoli ne Ogi kabaka w'e Basani; naye yali omwami yekka eyali mu nsi. 11K1I004.020 Judah and Israel were many, as the sand which is by the sea in multitude, eating and drinking, and making merry. %%% Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka. 11K1I004.021 And Solomon reigned over all kingdoms from the river unto the land of the Philistines, and unto the border of Egypt: they brought presents, and served Solomon all the days of his life. %%% Awo Sulemaani n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi ey'Abafirisuuti, n'okutuuka ku nsalo ey'e Misiri: baaleetanga ebirabo, ne baweereza Sulemaani ennaku zonna ez'obulamu bwe. 11K1I004.022 And Solomon's provision for one day was thirty measures of fine flour, and threescore measures of meal, %%% Awo eby'oku lunaku olumu bye baasoloolezanga Sulemaani byali ebigero eby'obutta obulungi amakumi asatu, n'ebigero eby'obutta nkaaga; 11K1I004.023 Ten fat oxen, and twenty oxen out of the pastures, and an hundred sheep, beside harts, and roebucks, and fallowdeer, and fatted fowl. %%% ente eza ssava kkumi, n'ente ezaava mu ddundiro amakumi abiri, n'endiga kikumi, obutassaako njaza na mpeewo na nnangaazi na nkoko ze baasavuwazanga. 11K1I004.024 For he had dominion over all the region on this side the river, from Tiphsah even to Azzah, over all the kings on this side the river: and he had peace on all sides round about him. %%% Kubanga yafuganga ensi yonna eri emitala w'eno w'Omugga, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afuga bakabaka bonna abaali emitala w'eno w'Omugga: era yalina emirembe enjuyi zonna okumwetooloola. 11K1I004.025 And Judah and Israel dwelt safely, every man under his vine and under his fig tree, from Dan even to Beersheba, all the days of Solomon. %%% Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w'omuzabbibu gwe n'omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, emirembe gyonna egya Sulemaani. 11K1I004.026 And Solomon had forty thousand stalls of horses for his chariots, and twelve thousand horsemen. %%% Era Sulemaani yalina ebisibo by'embalaasi obukumi buna olw'amagaali ge; n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri. 11K1I004.027 And those officers provided victual for king Solomon, and for all that came unto king Solomon's table, every man in his month: they lacked nothing. %%% Abaami abo ne balabiranga kabaka Sulemaani n'abo bonna abajja ku mmeeza ya kabaka Sulemaani ebyokulya, buli muntu mu mwezi gwe: tebaaganyanga kintu kyonna kubulawo. 11K1I004.028 Barley also and straw for the horses and dromedaries brought they unto the place where the officers were, every man according to his charge. %%% Era baaleetanga ne sayiri n'essubi olw'embalaasi n'ensolo ez'embiro mu kifo abaami gye bali, buli muntu ng'omulimu bwe gwali gwe yalagirwa. 11K1I004.029 And God gave Solomon wisdom and understanding exceeding much, and largeness of heart, even as the sand that is on the sea shore. %%% Katonda n'awa Sulemaani amagezi n'okutegeera kungi nnyo, n'omwoyo omukulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja. 11K1I004.030 And Solomon's wisdom excelled the wisdom of all the children of the east country, and all the wisdom of Egypt. %%% Amagezi ga Sulemaani ne gakira amagezi gonna ag'abaana b'ebuvanjuba, n'amagezi gonna ag'e Misiri. 11K1I004.031 For he was wiser than all men; than Ethan the Ezrahite, and Heman, and Chalcol, and Darda, the sons of Mahol: and his fame was in all nations round about. %%% Kubanga yakira abantu bonna amagezi; yakira Esani Omwezulaki ne Kemani ne Kalukoli ne Daluda, batabani ba Makoli: erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 11K1I004.032 And he spake three thousand proverbs: and his songs were a thousand and five. %%% N'ayogera engero enkumi ssatu: n'ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 11K1I004.033 And he spake of trees, from the cedar tree that is in Lebanon even unto the hyssop that springeth out of the wall: he spake also of beasts, and of fowl, and of creeping things, and of fishes. %%% N'ayogera ku miti, okuva ku muvule oguli ku Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe: yayogera ne ku nsolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja. 11K1I004.034 And there came of all people to hear the wisdom of Solomon, from all kings of the earth, which had heard of his wisdom. %%% Awo ne wajja ku mawanga gonna okuwulira amagezi ga Sulemaani, nga bava eri bakabaka bonna ab'ensi, abaali bawulidde ku magezi ge. 11K1I005.001 And Hiram king of Tyre sent his servants unto Solomon; for he had heard that they had anointed him king in the room of his father: for Hiram was ever a lover of David. %%% Awo Kiramu kabaka w'e Tuulo n'atuma abaddu be eri Sulemaani; kubanga yawulira nga bamufuseeko amafuta okuba kabaka mu kifo kya kitaawe: kubanga Kiramu obw'edda yayagalanga Dawudi. 11K1I005.002 And Solomon sent to Hiram, saying, %%% Sulemaani n'atumira Kiramu ng'ayogera nti 11K1I005.003 Thou knowest how that David my father could not build an house unto the name of the LORD his God for the wars which were about him on every side, until the LORD put them under the soles of his feet. %%% Omanyi Dawudi kitange nga teyayinza kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we ennyumba olw'entalo ezaamwetooloola enjuyi zonna, okutuusa Mukama lwe yabateeka wansi w'ebigere bye. 11K1I005.004 But now the LORD my God hath given me rest on every side, so that there is neither adversary nor evil occurrent. %%% Naye kaakano Mukama Katonda wange ampadde emirembe enjuyi zonna; tewali mulabe newakubadde akabi akajja. 11K1I005.005 And, behold, I purpose to build an house unto the name of the LORD my God, as the LORD spake unto David my father, saying, Thy son, whom I will set upon thy throne in thy room, he shall build an house unto my name. %%% Era, laba, nteesezza okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange nti Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe yo ng'adda mu bigere byo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba. 11K1I005.006 Now therefore command thou that they hew me cedar trees out of Lebanon; and my servants shall be with thy servants: and unto thee will I give hire for thy servants according to all that thou shalt appoint: for thou knowest that there is not among us any that can skill to hew timber like unto the Sidonians. %%% Kale nno lagira bantemere emivule ku Lebanooni; n'abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo era ndikuwa empeera olw'abaddu bo nga byonna bwe biriba by'oligamba: kubanga omanyi nga ku ffe tekuli n'omu alina amagezi okutema emiti okwenkana ab'e Sidoni. 11K1I005.007 And it came to pass, when Hiram heard the words of Solomon, that he rejoiced greatly, and said, Blessed be the LORD this day, which hath given unto David a wise son over this great people. %%% Awo olwatuuka Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Sulemaani, n'asanyuka nnyo n'ayogera nti Mukama yeebazibwe leero awadde Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu. 11K1I005.008 And Hiram sent to Solomon, saying, I have considered the things which thou sentest to me for: and I will do all thy desire concerning timber of cedar, and concerning timber of fir. %%% Awo Kiramu n'atumira Sulemaani ng'ayogera nti Mpulidde by'ontumidde: naakolanga byonna by'oyagala eby'emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi. 11K1I005.009 My servants shall bring them down from Lebanon unto the sea: and I will convey them by sea in floats unto the place that thou shalt appoint me, and will cause them to be discharged there, and thou shalt receive them: and thou shalt accomplish my desire, in giving food for my household. %%% Abaddu bange baligiggya ku Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja: era ndigisengeka okuba ebitindiro okuyita ku nnyanja okugenda mu kifo ky'olindaga, era ndiragira okugisumululira eyo, naawe oligiweebwa: era olikola kye njagala bw'onoowanga emmere ey'ab'omu nnyumba yange. 11K1I005.010 So Hiram gave Solomon cedar trees and fir trees according to all his desire. %%% Awo Kiramu n'awa Sulemaani emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi nga byonna bwe byali bye yayagala. 11K1I005.011 And Solomon gave Hiram twenty thousand measures of wheat for food to his household, and twenty measures of pure oil: thus gave Solomon to Hiram year by year. %%% Sulemaani n'awa Kiramu ebigero by'eŋŋaano obukumi bubiri okuba emmere ey'ab'omu nnyumba ye, n'amafuta amalongoofu ebigero amakumi abiri: bw'atyo Sulemaani bwe yawanga Kiramu buli mwaka. 11K1I005.012 And the LORD gave Solomon wisdom, as he promised him: and there was peace between Hiram and Solomon; and they two made a league together. %%% Mukama n'awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza; ne waba emirembe eri Kiramu ne Sulemaani; ne balagaana endagaano bombi. 11K1I005.013 And king Solomon raised a levy out of all Israel; and the levy was thirty thousand men. %%% Awo kabaka Sulemaani n'asolooza abantu mu Isiraeri yenna; abaasoloozebwa ne baba abasajja obukumi busatu. 11K1I005.014 And he sent them to Lebanon, ten thousand a month by courses: a month they were in Lebanon, and two months at home: and Adoniram was over the levy. %%% N'abasindikanga e Lebanooni, buli mwezi kakumi mu mpalo: baamalanga omwezi ku Lebanooni, n'emyezi ebiri ewaabwe: era Adoniraamu ye yali omugabe w'abo abaasoloozebwa. 11K1I005.015 And Solomon had threescore and ten thousand that bare burdens, and fourscore thousand hewers in the mountains; %%% Era Sulemaani yalina obukumi musanvu abaasitulanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemeranga ku nsozi; 11K1I005.016 Beside the chief of Solomon's officers which were over the work, three thousand and three hundred, which ruled over the people that wrought in the work. %%% obutassaako baami ba Sulemaani abakulu abaalabirira omulimu, enkumi ssatu mu ebikumi bisatu, abaafuga abantu abaakola omulimu. 11K1I005.017 And the king commanded, and they brought great stones, costly stones, and hewed stones, to lay the foundation of the house. %%% Kabaka n'alagira ne batema ne baggyayo amayinja amanene, amayinja ag'omuwendo omungi, okussaawo emisingi gy'ennyumba n'amayinja amabajje. 11K1I005.018 And Solomon's builders and Hiram's builders did hew them, and the stonesquarers: so they prepared timber and stones to build the house. %%% Abazimbi ba Sulemaani n'abazimbi ba Kiramu n'Abagebali ne bagalongoosa, ne bategeka emiti n'amayinja okuzimba ennyumba. 11K1I006.001 And it came to pass in the four hundred and eightieth year after the children of Israel were come out of the land of Egypt, in the fourth year of Solomon's reign over Israel, in the month Zif, which is the second month, that he began to build the house of the LORD. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ebina mu kinaana abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogw'okuna Sulemaani kasookedde afuga Isiraeri, mu mwezi Zivu gwe mwezi ogw'okubiri, n'atanula okuzimba ennyumba ya Mukama. 11K1I006.002 And the house which king Solomon built for the LORD, the length thereof was threescore cubits, and the breadth thereof twenty cubits, and the height thereof thirty cubits. %%% N'ennyumba kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama, obuwanvu bwayo bwali emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwayo emikono amakumi asatu. 11K1I006.003 And the porch before the temple of the house, twenty cubits was the length thereof, according to the breadth of the house; and ten cubits was the breadth thereof before the house. %%% N'ekisasi ekiri mu maaso ga yeekaalu y'ennyumba, obuwanvu bwakyo bwali emikono amakumi abiri, ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali: obugazi bwakyo mu maaso g'ennyumba bwali emikono kkumi. 11K1I006.004 And for the house he made windows of narrow lights. %%% N'akola mu nnyumba amadirisa ag'omulimu omuluke obutabikkulwa. 11K1I006.005 And against the wall of the house he built chambers round about, against the walls of the house round about, both of the temple and of the oracle: and he made chambers round about: %%% Ne ku kisenge ky'ennyumba n'azimbako enju okwetooloola, ku bisenge by'ennyumba okwetooloola, ebya yeekaalu era n'eby'awayimibwa okwogera; n'akolawo ebisenge eby'oku bbali okwetooloola: 11K1I006.006 The nethermost chamber was five cubits broad, and the middle was six cubits broad, and the third was seven cubits broad: for without in the wall of the house he made narrowed rests round about, that the beams should not be fastened in the walls of the house. %%% enju eya wansi obugazi bwayo emikono etaano, n'eya wakati obugazi bwayo emikono mukaaga, n'ey'okusatu obugazi bwayo emikono musanvu: kubanga ku kisenge ky'ennyumba ebweru okwetooloola yasalako emiti gireme okukwata mu kisenge ky'ennyumba. 11K1I006.007 And the house, when it was in building, was built of stone made ready before it was brought thither: so that there was neither hammer nor axe nor any tool of iron heard in the house, while it was in building. %%% N'ennyumba bwe baali bagizimba yazimbibwa n'amayinja agalongoosezzwa gye bagabajjira: so tewaali nnyondo newakubadde embazzi newakubadde ekintu kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu nnyumba bwe baali bagizimba. 11K1I006.008 The door for the middle chamber was in the right side of the house: and they went up with winding stairs into the middle chamber, and out of the middle into the third. %%% Oluggi olw'ebisenge eby'oku bbali ebya wakati lwali ku luuyi olwa ddyo olw'ennyumba: ne balinnyiranga ku madaala ageenyoolanyoola okugenda mu bisenge ebya wakati, ne bava mu bya wakati ne bagenda mu by'okusatu. 11K1I006.009 So he built the house, and finished it; and covered the house with beams and boards of cedar. %%% Bw'atyo bwe yazimba ennyumba, n'agimala; ennyumba n'agibikkako emiti n'embaawo ez'emivule. 11K1I006.010 And then he built chambers against all the house, five cubits high: and they rested on the house with timber of cedar. %%% Ennyumba yonna n'agizimbako enju, buli nju obugulumivu bwayo emikono etaano: ne zeesigama ku nnyumba n'emiti gy'emivule. 11K1I006.011 And the word of the LORD came to Solomon, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nga kyogera nti 11K1I006.012 Concerning this house which thou art in building, if thou wilt walk in my statutes, and execute my judgments, and keep all my commandments to walk in them; then will I perform my word with thee, which I spake unto David thy father: %%% Eby'ennyumba eno gy'ozimba, bw'onootambuliranga mu mateeka gange n'otuukiriza emisango gyange, n'okwata ebiragiro byange byonna okubitambulirangamu: kale naanywezanga ekigambo kyange naawe, kye nnagamba Dawudi kitaawo 11K1I006.013 And I will dwell among the children of Israel, and will not forsake my people Israel. %%% Era naabeeranga mu baana ba Isiraeri, so siirekenga bantu bange Isiraeri. 11K1I006.014 So Solomon built the house, and finished it. %%% Awo Sulemaani n'azimba ennyumba n'agimala. 11K1I006.015 And he built the walls of the house within with boards of cedar, both the floor of the house, and the walls of the ceiling: and he covered them on the inside with wood, and covered the floor of the house with planks of fir. %%% N'azimba ebisenge by'ennyumba munda n'emiti gy'emivule; okuva wansi w'ennyumba okutuuka ku bisenge eby'omu kasolya, n'abibikkako munda emiti: ne wansi w'ennyumba n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi. 11K1I006.016 And he built twenty cubits on the sides of the house, both the floor and the walls with boards of cedar: he even built them for it within, even for the oracle, even for the most holy place. %%% N'azimba emikono abiri mu njuyi ez'ennyumba ez'ennyuma n’embaawo ez'emivule okuva wansi okutuuka ku bisenge: yazimba mu yo munda okuba awayimibwa okwogera okuba awatukuvu ennyo. 11K1I006.017 And the house, that is, the temple before it, was forty cubits long. %%% N'ennyumba ya yeekaalu eri mu maaso g'awayimibwa okwogera, obuwanvu bwayo bwali mikono amakumi ana. 11K1I006.018 And the cedar of the house within was carved with knops and open flowers: all was cedar; there was no stone seen. %%% Ne ku nnyumba munda kwaliko emivule egyayolebwako entaabwa n'ebimuli ebyanjulukuse: byonna byali bya mivule: tewaali jjinja eryalabika. 11K1I006.019 And the oracle he prepared in the house within, to set there the ark of the covenant of the LORD. %%% N'ategeka awayimibwa okwogera wakati mu nnyumba munda, okuteekamu essanduuko ey'endagaano ya Mukama. 11K1I006.020 And the oracle in the forepart was twenty cubits in length, and twenty cubits in breadth, and twenty cubits in the height thereof: and he overlaid it with pure gold; and so covered the altar which was of cedar. %%% Ne munda w'awayimibwa okwogera mwalimu ebbanga ery'emikono amakumi abiri obuwanvu, n'emikono amakumi abiri obugazi, n'emikono amakumi abiri obugulumivu bwalyo: n'abikkako zaabu ennongoofu: ekyoto n'akibikkako emivule. 11K1I006.021 So Solomon overlaid the house within with pure gold: and he made a partition by the chains of gold before the oracle; and he overlaid it with gold. %%% Awo Sulemaani n'abikka ku nnyumba munda ezaabu ennongoofu: n'atimba emikuufu egya zaabu mu maaso g'awayimibwa okwogera: n'abikkako zaabu. 11K1I006.022 And the whole house he overlaid with gold, until he had finished all the house: also the whole altar that was by the oracle he overlaid with gold. %%% Ennyumba yonna n'agibikkako ezaabu, okutuusa ennyumba yonna lwe yaggwa: era n'ekyoto kyonna eky'awayimibwa okwogera n'akibikkako ezaabu. 11K1I006.023 And within the oracle he made two cherubims of olive tree, each ten cubits high. %%% Era awayimibwa okwogera n'akolawo bakerubi babiri ab'emiti egy'emizeyituuni, buli kerubi obuwanvu bwe emikono kkumi. 11K1I006.024 And five cubits was the one wing of the cherub, and five cubits the other wing of the cherub: from the uttermost part of the one wing unto the uttermost part of the other were ten cubits. %%% N'ekiwawaatiro ekimu ekya kerubi kyali emikono etaano, n'ekiwawaatiro eky'okubiri ekya kerubi emikono etaano: ekiwawaatiro ekimu we kikoma, ne kinnaakyo we kikoma, ebbanga lyali emikono kkumi. 11K1I006.025 And the other cherub was ten cubits: both the cherubims were of one measure and one size. %%% Ne kerubi ow'okubiri yali emikono kkumi: bakerubi bombi ekigero kyabwe kimu n'embala yaabwe emu. 11K1I006.026 The height of the one cherub was ten cubits, and so was it of the other cherub. %%% Kerubi omu obugulumivu bwe bwali emikono kkumi, n'obwa kerubi ow'okubiri bwe butyo. 11K1I006.027 And he set the cherubims within the inner house: and they stretched forth the wings of the cherubims, so that the wing of the one touched the one wall, and the wing of the other cherub touched the other wall; and their wings touched one another in the midst of the house. %%% N'ateeka bakerubi mu nnyumba ey'omunda: n'ebiwawaatiro bya bakerubi byali bibambiddwa bwe bityo ekiwawaatiro ky'omu n'okukwata ne kikwata ku kisenge eruuyi, n'ekiwawaatiro kya kerubi ow'okubiri ne kikwata ku kisenge eruuyi; n'ebiwawaatiro byabwe ne bikwataganira wakati w'ennyumba. 11K1I006.028 And he overlaid the cherubims with gold. %%% Bakerubi n'ababikkako zaabu. 11K1I006.029 And he carved all the walls of the house round about with carved figures of cherubims and palm trees and open flowers, within and without. %%% N'ayola ku bisenge byonna eby'ennyumba okwetooloola enjola eza bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjulukuse, munda n'ebweru. 11K1I006.030 And the floor of the house he overlaid with gold, within and without. %%% Ne wansi w'ennyumba n'abikkako zaabu, munda n'ebweru. 11K1I006.031 And for the entering of the oracle he made doors of olive tree: the lintel and side posts were a fifth part of the wall. %%% N'awayingirirwa awayimibwa okwogera n'akolawo enzigi ez'emiti egy'emizeyituuni; akabuno n'emifuubeeto byali kitundu kya kutaano kya kisenge. 11K1I006.032 The two doors also were of olive tree; and he carved upon them carvings of cherubims and palm trees and open flowers, and overlaid them with gold, and spread gold upon the cherubims, and upon the palm trees. %%% Awo n'akola enzigi bbiri ez'emiti egy'emizeyituuni; n'azoolako enjola bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjulukuse, n'azibikkako zaabu; n'ayaliira zaabu ku bakerubi ne ku nkindu. 11K1I006.033 So also made he for the door of the temple posts of olive tree, a fourth part of the wall. %%% Era bw'atyo n'akolera omuzigo ogwa wankaaki wa yeekaalu emifuubeeto gya mizeyituuni, ku kitundu ky'ekisenge eky'okuna; 11K1I006.034 And the two doors were of fir tree: the two leaves of the one door were folding, and the two leaves of the other door were folding. %%% n'enzigi bbiri za miberosi; embaawo zombi ez'oluggi olumu nga zikyuka, n'embaawo zombi ez'oluggi olw'okubiri nga zikyuka. 11K1I006.035 And he carved thereon cherubims and palm trees and open flowers: and covered them with gold fitted upon the carved work. %%% N'ayolako bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjulukuse: n'abibikkako zaabu eyanyigirizibwa ku mulimu ogw'enjola. 11K1I006.036 And he built the inner court with three rows of hewed stone, and a row of cedar beams. %%% N'azimba oluggya olw'omunda n'embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu olw'emiti egy'emivule. 11K1I006.037 In the fourth year was the foundation of the house of the LORD laid, in the month Zif: %%% Ne bassaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama mu mwaka ogw'okuna, mu mwezi Zivu. 11K1I006.038 And in the eleventh year, in the month Bul, which is the eighth month, was the house finished throughout all the parts thereof, and according to all the fashion of it. So was he seven years in building it. %%% Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwezi Buli, gwe mwezi ogw'omunaana, ne bamala ennyumba mu bitundu byayo byonna, era ng'embala yaayo yonna bwe yali. Bw'atyo yamala emyaka musanvu okugizimba. 11K1I007.001 But Solomon was building his own house thirteen years, and he finished all his house. %%% Sulemaani n'amala emyaka kkumi n'esatu ng'azimba ennyumba ye ye, n'amala ennyumba ye yonna. 11K1I007.002 He built also the house of the forest of Lebanon; the length thereof was an hundred cubits, and the breadth thereof fifty cubits, and the height thereof thirty cubits, upon four rows of cedar pillars, with cedar beams upon the pillars. %%% Kubanga yazimba ennyumba ey'ekibira kya Lebanooni: obuwanvu bwayo bwali emikono kikumi, n'obugazi bwayo emikono amakumi ataano, n'obugulumivu bwayo emikono amakumi asatu, ku mbu nnya ez'empagi ez'emivule, emiti egy'emivule nga ziri ku mpagi. 11K1I007.003 And it was covered with cedar above upon the beams, that lay on forty five pillars, fifteen in a row. %%% N'ebikkibwako waggulu emivule ku mikiikiro ana mu etaano egyali ku mpagi; buli lubu kkumi na ttaano. 11K1I007.004 And there were windows in three rows, and light was against light in three ranks. %%% Era waliwo embu ssatu ezitunuulirwamu, n'eddirisa nga lyolekera ddirisa linnaalyo mu nnyiriri ssatu. 11K1I007.005 And all the doors and posts were square, with the windows: and light was against light in three ranks. %%% Era emizigo gyonna n'emifuubeeto nga gyenkanankana okutunuulirwamu: n'eddirisa lyayolekera ddirisa linnaalyo mu nnyiriri ssatu. 11K1I007.006 And he made a porch of pillars; the length thereof was fifty cubits, and the breadth thereof thirty cubits: and the porch was before them: and the other pillars and the thick beam were before them. %%% N'akola ekisasi n’empagi: obuwanvu bwakyo bwali emikono amakumi ataano, n'obugazi bwakyo emikono amakumi asatu; ne mu maaso gaazo kisasi: ne mu maaso gaazo mpagi na miti minene. 11K1I007.007 Then he made a porch for the throne where he might judge, even the porch of judgment: and it was covered with cedar from one side of the floor to the other. %%% N'akola ekisasi ky'entebe w'abanga ayima okusalanga emisango, kye kisasi eky'emisango: era kyabikkibwako emivule okuva wansi okutuuka ku buziizi. 11K1I007.008 And his house where he dwelt had another court within the porch, which was of the like work. Solomon made also an house for Pharaoh's daughter, whom he had taken to wife, like unto this porch. %%% N'ennyumba ye gye yabeerangamu, oluggya olulala munda w'ekisasi, yali ya mulimu gumu na guli. Era n'akolera muwala wa Falaawo ennyumba, (Sulemaani gwe yali afumbiddwa,) okufaanana ng'ekisasi ekyo. 11K1I007.009 All these were of costly stones, according to the measures of hewed stones, sawed with saws, within and without, even from the foundation unto the coping, and so on the outside toward the great court. %%% Ezo zonna zaali za mayinja ga muwendo mungi, ga mayinja mabajje, nga bwe gagerebwa agasalibwa n'emisumeeno, munda n'ebweru, okuva ku musingi okutuuka ku mayinja aga waggulu, era bwe gatyo n'ebweru okutuuka ku luggya olukulu. 11K1I007.010 And the foundation was of costly stones, even great stones, stones of ten cubits, and stones of eight cubits. %%% N'omusingi gwali gwa mayinja ga muwendo mungi, amayinja amanene, amayinja ag'emikono kkumi, n'amayinja ag'emikono munaana. 11K1I007.011 And above were costly stones, after the measures of hewed stones, and cedars. %%% Ne waggulu waaliwo amayinja ag'omuwendo omungi, amayinja amabajje, nga bwe gagerebwa, n'emiti egy'emivule. 11K1I007.012 And the great court round about was with three rows of hewed stones, and a row of cedar beams, both for the inner court of the house of the LORD, and for the porch of the house. %%% N'oluggya olukulu olwetoolodde lwalina embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu lw'emiti egy'emivule; ng'oluggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, n'ekisasi ky'ennyumba. 11K1I007.013 And king Solomon sent and fetched Hiram out of Tyre. %%% Awo kabaka Sulemaani n'atuma n'aggya Kiramu mu Ttuulo. 11K1I007.014 He was a widow's son of the tribe of Naphtali, and his father was a man of Tyre, a worker in brass: and he was filled with wisdom, and understanding, and cunning to work all works in brass. And he came to king Solomon, and wrought all his work. %%% Yali mwana wa mukazi nnamwandu ow'omu kika kya Nafutaali, ne kitaawe yali musajja ow'e Ttuulo, omuweesi w'ebikomo; era yajjuzibwa amagezi n'okutegeera n'obukabakaba, okukola emirimu gyonna egy'ebikomo. N'ajja eri kabaka Sulemaani, n'akola omulimu gwe gwonna. 11K1I007.015 For he cast two pillars of brass, of eighteen cubits high apiece: and a line of twelve cubits did compass either of them about. %%% Kubanga yaweesa empagi zombi ez'ebikomo, buli mpagi obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana: n'omugwa ogw'emikono kkumi n'ebiri gwetooloola zombi kinneemu. 11K1I007.016 And he made two chapiters of molten brass, to set upon the tops of the pillars: the height of the one chapiter was five cubits, and the height of the other chapiter was five cubits: %%% N'akola emitwe ebiri egy'ebikono ebisaanuuse, okugiteeka ku ntikko z'empagi: omutwe ogumu obugulumivu bwagwo bwali emikono etaano, n'omutwe ogw'okubiri obugulumivu bwagwo emikono etaano. 11K1I007.017 And nets of checker work, and wreaths of chain work, for the chapiters which were upon the top of the pillars; seven for the one chapiter, and seven for the other chapiter. %%% Waaliwo ebitimba eby'omulimu ogulukibwa, n'emiggo egy'omulimu ogw'emikuufu, okuba ku mitwe egyali ku ntikko z'empagi; omusanvu bya ku mutwe gumu, n'omusanvu bya ku mutwe ogw'okubiri. 11K1I007.018 And he made the pillars, and two rows round about upon the one network, to cover the chapiters that were upon the top, with pomegranates: and so did he for the other chapiter. %%% Bw'atyo bwe yakola empagi: ne waba embu bbiri ez'okwetooloola ku kitimba ekimu, okubikka ku mitwe egyali ku ntikko z'empagi: era bw'atyo bwe yakola omutwe ogw'okubiri. 11K1I007.019 And the chapiters that were upon the top of the pillars were of lily work in the porch, four cubits. %%% N'emitwe egyali ku ntikko z'empagi mu kisasi gyali gya mulimu gwa bimuli bya malanga emikono ena. 11K1I007.020 And the chapiters upon the two pillars had pomegranates also above, over against the belly which was by the network: and the pomegranates were two hundred in rows round about upon the other chapiter. %%% Era ne waggulu waaliwo emitwe ku mpagi zombi, kumpi n'olubuto olwaliraana ekitimba: n'amakomamawanga gaali ebikumi bibiri, mu mbu okwetooloola ku mutwe ogw'okubiri. 11K1I007.021 And he set up the pillars in the porch of the temple: and he set up the right pillar, and called the name thereof Jachin: and he set up the left pillar, and called the name thereof Boaz. %%% N'asimba empagi ku kisasi kya yeekaalu: n'asimba empagi eya ddyo, n'agituuma erinnya lyayo Yakini: n'asimba empagi eya kkono, n'agituuma erinnya lyayo Bowaazi. 11K1I007.022 And upon the top of the pillars was lily work: so was the work of the pillars finished. %%% Ne ku ntikko z'empagi kwaliko omulimu ogw'ebimuli eby'amalanga: bwe gutyo omulimu gw'empagi bwe gwamalibwa. 11K1I007.023 And he made a molten sea, ten cubits from the one brim to the other: it was round all about, and his height was five cubits: and a line of thirty cubits did compass it round about. %%% N'akola ennyanja ensaanuuse ya mikono kkumi okuva ku muggo okutuuka ku muggo, neekulungirivu, n'obugulumivu bwayo bwali emikono etaano: era omugwa ogw'emikono amakumi asatu gwagyetooloola. 11K1I007.024 And under the brim of it round about there were knops compassing it, ten in a cubit, compassing the sea round about: the knops were cast in two rows, when it was cast. %%% Era wansi w'omuggo gwayo okwetooloola waaliwo entaabwa ezaagyetooloola, emikono kkumi, nga zeetooloola ennyanja enjuyi zonna: entaabwa zaali mbu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa. 11K1I007.025 It stood upon twelve oxen, three looking toward the north, and three looking toward the west, and three looking toward the south, and three looking toward the east: and the sea was set above upon them, and all their hinder parts were inward. %%% Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira obugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira obuvanjuba: ennyanja n'eteekebwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda. 11K1I007.026 And it was an hand breadth thick, and the brim thereof was wrought like the brim of a cup, with flowers of lilies: it contained two thousand baths. %%% N'obugazi bwayo luta; n'omuggo gwayo gwakolebwa ng'omuggo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: yagyamu ensuwa enkumi bbiri. 11K1I007.027 And he made ten bases of brass; four cubits was the length of one base, and four cubits the breadth thereof, and three cubits the height of it. %%% N'akola entebe ekkumi za bikomo; entebe emu obuwanvu bwayo emikono ena, n'obugazi bwayo emikono ena, n'obugulumivu bwayo emikono esatu. 11K1I007.028 And the work of the bases was on this manner: they had borders, and the borders were between the ledges: %%% N'omulimu gw'entebe gwali bwe guti: zaaliko enkulukumbi; ne waba enkulukumbi wakati w'amadaala: 11K1I007.029 And on the borders that were between the ledges were lions, oxen, and cherubims: and upon the ledges there was a base above: and beneath the lions and oxen were certain additions made of thin work. %%% ne ku nkulukumbi ezaali wakati w'amadaala ne kubaako empologoma n'ente ne bakerubi; ne ku madaala ne kubaako waggulu ekitereezebwako: ne wansi w'empologoma n'ente ne wabaawo emigo egy'omulimu oguleebeeta. 11K1I007.030 And every base had four brasen wheels, and plates of brass: and the four corners thereof had undersetters: under the laver were undersetters molten, at the side of every addition. %%% Na buli ntebe yaliko bannamuziga bana ab'ebikomo n'eby'omu nkata eby'ebikomo: n'ebigere byayo ebina byaliko emisituliro: wansi w'ekinaabirwamu waaliwo emisituliro egyasaanuusibwa, buli musituliro nga guliko emigo ku mbiriizi zaagwo. 11K1I007.031 And the mouth of it within the chapiter and above was a cubit: but the mouth thereof was round after the work of the base, a cubit and an half: and also upon the mouth of it were gravings with their borders, foursquare, not round. %%% N'akamwa kaayo munda w'omutwe ne waggulu gwali mukono gumu: n'akamwa kaayo kaali keekulungirivu ng'omulimu ogw'ekitereezebwako bwe guli, mukono ko ekitundu: era ku kamwa kaayo kwaliko enjola, n'enkulukumbi zaazo nga zeesonga obutaba n'ekulungirivu. 11K1I007.032 And under the borders were four wheels; and the axletrees of the wheels were joined to the base: and the height of a wheel was a cubit and half a cubit. %%% Ne bannamuziga abana baali wansi w'enkulukumbi; n'emikiikiro gya bannamuziga gyali mu ntebe: n'obugulumivu bwa nnamuziga mukono ko ekitundu ky'omukono. 11K1I007.033 And the work of the wheels was like the work of a chariot wheel: their axletrees, and their naves, and their felloes, and their spokes, were all molten. %%% N'omulimu gwa nnamuziga gwali ng'omulimu gwa nnamuziga w'eggaali: emikiikiro gyako ne bannamuziga baako n'amagulu gaako n'enkata zaako byonna byali bisaanuuse. 11K1I007.034 And there were four undersetters to the four corners of one base: and the undersetters were of the very base itself. %%% Era waaliwo emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli ntebe: emisituliro gyako gyali gya ntebe yennyini. 11K1I007.035 And in the top of the base was there a round compass of half a cubit high: and on the top of the base the ledges thereof and the borders thereof were of the same. %%% Ne ku ntikko y'entebe kwaliko ekintu eky'ekulungirivu obugulumivu bwakyo kitundu kya mukono: ne ku ntikko y'entebe emikono gyako n'enkulukumbi zaako byali bwe bityo. 11K1I007.036 For on the plates of the ledges thereof, and on the borders thereof, he graved cherubims, lions, and palm trees, according to the proportion of every one, and additions round about. %%% Ne ku bipande by'emikono gyako ne ku nkulukumbi zaako n'ayolako bakerubi n'empologoma n'enkindu, ng'ekigero bwe kyenkana ekya buli kinnakimu, emigo nga gyetooloola. 11K1I007.037 After this manner he made the ten bases: all of them had one casting, one measure, and one size. %%% Bw'atyo bwe yakola entebe ekkumi: zonna baazisaanuusa bumu, n'ekigero kimu, n'embala emu. 11K1I007.038 Then made he ten lavers of brass: one laver contained forty baths: and every laver was four cubits: and upon every one of the ten bases one laver. %%% N'akola ebinaabirwamu kkumi bya bikomo: ekinaabirwamu ekimu kyagyamu ensuwa amakumi ana: na buli kinaabirwamu kyali kya mikono ena: ne ku ntebe ekkumi kinneemu ne kubaako ekinaabirwamu ekimu. 11K1I007.039 And he put five bases on the right side of the house, and five on the left side of the house: and he set the sea on the right side of the house eastward over against the south. %%% N'ateeka entebe, ettaano ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo, n'ettaano ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono : n'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo. 11K1I007.040 And Hiram made the lavers, and the shovels, and the basons. So Hiram made an end of doing all the work that he made king Solomon for the house of the LORD: %%% Kiramu n'akola ebinaabirwamu n'ebijiiko n'ebibya. Awo Kiramu n'amalira ddala omulimu gwonna gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Mukama: 11K1I007.041 The two pillars, and the two bowls of the chapiters that were on the top of the two pillars; and the two networks, to cover the two bowls of the chapiters which were upon the top of the pillars; %%% empagi zombi n'ebibya byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bibya byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi; 11K1I007.042 And four hundred pomegranates for the two networks, even two rows of pomegranates for one network, to cover the two bowls of the chapiters that were upon the pillars; %%% n'amakomamawanga ebikumi bina ag'okubitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bibya byombi eby'emitwe egyali ku mpagi; 11K1I007.043 And the ten bases, and ten lavers on the bases; %%% n'entebe ekkumi n'ebinaabirwamu ekkumi ebyali ku ntebe; 11K1I007.044 And one sea, and twelve oxen under the sea; %%% n'ennyanja emu n'ente ekkumi n'ebbiri ezaali wansi w'ennyanja; 11K1I007.045 And the pots, and the shovels, and the basons: and all these vessels, which Hiram made to king Solomon for the house of the LORD, were of bright brass. %%% n'entamu n'ebisena n'ebibya: ebintu ebyo byonna Kiramu bye yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Mukama byali bya bikomo bizigule. 11K1I007.046 In the plain of Jordan did the king cast them, in the clay ground between Succoth and Zarthan. %%% Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati w'e Sukkosi ne Zalesani. 11K1I007.047 And Solomon left all the vessels unweighed, because they were exceeding many: neither was the weight of the brass found out. %%% Sulemaani n'aleka ebintu byonna nga tabigeze, kubanga byali bingi nnyo nnyini: obuzito bw'ebikomo tebwategeerekeka. 11K1I007.048 And Solomon made all the vessels that pertained unto the house of the LORD: the altar of gold, and the table of gold, whereupon the shewbread was, %%% Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Mukama: ekyoto ekya zaabu n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga, ya zaabu; 11K1I007.049 And the candlesticks of pure gold, five on the right side, and five on the left, before the oracle, with the flowers, and the lamps, and the tongs of gold, %%% n'ebikondo, ku luuyi olwa ddyo bitaano, ne ku lwa kkono bitaano, mu maaso g'awayimibwa okwogera, bya zaabu nnongoofu; n'ebimuli n'eby'ettabaaza ne makaasi, bya zaabu; 11K1I007.050 And the bowls, and the snuffers, and the basons, and the spoons, and the censers of pure gold; and the hinges of gold, both for the doors of the inner house, the most holy place, and for the doors of the house, to wit, of the temple. %%% n'ebikompe n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu; n'eŋŋango ez'enzigi z'ennyumba ey'omunda, kifo ekitukuvu ennyo, era n'ez'enzigi z'ennyumba, ya yeekaalu, za zaabu. 11K1I007.051 So was ended all the work that king Solomon made for the house of the LORD. And Solomon brought in the things which David his father had dedicated; even the silver, and the gold, and the vessels, did he put among the treasures of the house of the LORD. %%% Bwe gutyo omulimu gwonna kabaka Sulemaani gwe yakola mu nnyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga, effeeza n'ezaabu n'ebintu, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Mukama. 11K1I008.001 Then Solomon assembled the elders of Israel, and all the heads of the tribes, the chief of the fathers of the children of Israel, unto king Solomon in Jerusalem, that they might bring up the ark of the covenant of the LORD out of the city of David, which is Zion. %%% Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, eri kabaka Sulemaani e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga bagiggya mu kibuga kya Dawudi, Sayuuni. 11K1I008.002 And all the men of Israel assembled themselves unto king Solomon at the feast in the month Ethanim, which is the seventh month. %%% Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira eri kabaka Sulemaani ku mbaga, mu mwezi Esanimu, gwe mwezi ogw'omusanvu. 11K1I008.003 And all the elders of Israel came, and the priests took up the ark. %%% Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, bakabona ne basitula essanduuko. 11K1I008.004 And they brought up the ark of the LORD, and the tabernacle of the congregation, and all the holy vessels that were in the tabernacle, even those did the priests and the Levites bring up. %%% Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona n'Abaleevi bye baalinnyisa. 11K1I008.005 And king Solomon, and all the congregation of Israel, that were assembled unto him, were with him before the ark, sacrificing sheep and oxen, that could not be told nor numbered for multitude. %%% Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali baali wamu naye mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente ezitabalika newakubadde okugattika olw'obungi. 11K1I008.006 And the priests brought in the ark of the covenant of the LORD unto his place, into the oracle of the house, to the most holy place, even under the wings of the cherubims. %%% Bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa mu nnyumba okwogera, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi. 11K1I008.007 For the cherubims spread forth their two wings over the place of the ark, and the cherubims covered the ark and the staves thereof above. %%% Kubanga bakerubi baabamba ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky'essanduuko, bakerubi ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo waggulu. 11K1I008.008 And they drew out the staves, that the ends of the staves were seen out in the holy place before the oracle, and they were not seen without: and there they are unto this day. %%% Era emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima mu kifo ekitukuvu mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye ayima ebweru nga tagiraba: era giri eyo ne leero. 11K1I008.009 There was nothing in the ark save the two tables of stone, which Moses put there at Horeb, when the LORD made a covenant with the children of Israel, when they came out of the land of Egypt. %%% Tewaali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi eby'amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri. 11K1I008.010 And it came to pass, when the priests were come out of the holy place, that the cloud filled the house of the LORD, %%% Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, ekire ne kijjuza ennyumba ya Mukama, 11K1I008.011 So that the priests could not stand to minister because of the cloud: for the glory of the LORD had filled the house of the LORD. %%% bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza ennyumba ya Mukama. 11K1I008.012 Then spake Solomon, The LORD said that he would dwell in the thick darkness. %%% Awo Sulemaani n'agamba nti Mukama yayogera ng'anaabeeranga mu kizikiza ekikutte. 11K1I008.013 I have surely built thee an house to dwell in, a settled place for thee to abide in for ever. %%% Mazima nkuzimbidde ennyumba ey'okubeerangamu, ekifo ky'onootuulangamu emirembe gyonna. 11K1I008.014 And the king turned his face about, and blessed all the congregation of Israel: (and all the congregation of Israel stood;) %%% Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa; ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne kiyimirira. 11K1I008.015 And he said, Blessed be the LORD God of Israel, which spake with his mouth unto David my father, and hath with his hand fulfilled it, saying, %%% N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isiraeri, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, n'okutuukiriza akituukirizza n'omukono gwe, ng'ayogera nti 11K1I008.016 Since the day that I brought forth my people Israel out of Egypt, I chose no city out of all the tribes of Israel to build an house, that my name might be therein; but I chose David to be over my people Israel. %%% Okuva ku lunaku lwe nnaggirako abantu bange Isiraeri mu Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimba ennyumba, erinnya lyange libeerenga omwo; naye neeroboza Dawudi okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri. 11K1I008.017 And it was in the heart of David my father to build an house for the name of the LORD God of Israel. %%% Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimba ennyumba olw'erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri. 11K1I008.018 And the LORD said unto David my father, Whereas it was in thine heart to build an house unto my name, thou didst well that it was in thine heart. %%% Naye Mukama n'agamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimba ennyumba olw'erinnya lyange, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo: 11K1I008.019 Nevertheless thou shalt not build the house; but thy son that shall come forth out of thy loins, he shall build the house unto my name. %%% era naye tolizimba nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimba ennyumba olw'erinnya lyange. 11K1I008.020 And the LORD hath performed his word that he spake, and I am risen up in the room of David my father, and sit on the throne of Israel, as the LORD promised, and have built an house for the name of the LORD God of Israel. %%% Era Mukama anywezezza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, nga ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbye ennyumba olw'erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri. 11K1I008.021 And I have set there a place for the ark, wherein is the covenant of the LORD, which he made with our fathers, when he brought them out of the land of Egypt. %%% Era ngeze omwo ekifo eky'essanduuko; omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri. 11K1I008.022 And Solomon stood before the altar of the LORD in the presence of all the congregation of Israel, and spread forth his hands toward heaven: %%% Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali, n'ayanjuluza emikono gye eri eggulu: 11K1I008.023 And he said, LORD God of Israel, there is no God like thee, in heaven above, or on earth beneath, who keepest covenant and mercy with thy servants that walk before thee with all their heart: %%% n'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, tewali katonda akufaanana ggwe, mu ggulu waggulu newakubadde ku nsi wansi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo, abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna: 11K1I008.024 Who hast kept with thy servant David my father that thou promisedst him: thou spakest also with thy mouth, and hast fulfilled it with thine hand, as it is this day. %%% eyakwata ekyo kye wamusuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, n'okutuukiriza okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe kiri leero. 11K1I008.025 Therefore now, LORD God of Israel, keep with thy servant David my father that thou promisedst him, saying, There shall not fail thee a man in my sight to sit on the throne of Israel; so that thy children take heed to their way, that they walk before me as thou hast walked before me. %%% Kale nno, ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, kwata ekyo kye wasuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe okutambuliranga mu maaso gange, nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange. 11K1I008.026 And now, O God of Israel, let thy word, I pray thee, be verified, which thou spakest unto thy servant David my father. %%% Kale nno; ai Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, nkwegayiridde, kye wagamba omuddu wo Dawudi kitange. 11K1I008.027 But will God indeed dwell on the earth? behold, the heaven and heaven of heavens cannot contain thee; how much less this house that I have builded? %%% Naye Katonda anaabeeranga ku nsi mazima ddala? laba, eggulu n'eggulu ly'eggulu teriyinza kukugyamu: kale ennyumba eno gye nzimbye nga teriyinza n'akatono! 11K1I008.028 Yet have thou respect unto the prayer of thy servant, and to his supplication, O LORD my God, to hearken unto the cry and to the prayer, which thy servant prayeth before thee to day: %%% Naye ssaayo omwoyo gwo eri okusaba kw'omuddu wo, n'eri okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabira mu maaso go leero; 11K1I008.029 That thine eyes may be open toward this house night and day, even toward the place of which thou hast said, My name shall be there: that thou mayest hearken unto the prayer which thy servant shall make toward this place. %%% amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino. 11K1I008.030 And hearken thou to the supplication of thy servant, and of thy people Israel, when they shall pray toward this place: and hear thou in heaven thy dwelling place: and when thou hearest, forgive. %%% Era wulira ggwe okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wulira ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu; era bw'owulira sonyiwa. 11K1I008.031 If any man trespass against his neighbour, and an oath be laid upon him to cause him to swear, and the oath come before thine altar in this house: %%% Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamussaako ekirayiro okumulayiza, n'ajja n'alayirira mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno; 11K1I008.032 Then hear thou in heaven, and do, and judge thy servants, condemning the wicked, to bring his way upon his head; and justifying the righteous, to give him according to his righteousness. %%% kale owuliranga ng'oyima mu ggulu, okole osalire abaddu bo omusango, okusinga ababi okuleeta ekkubo lye ku mutwe gwe ye; era ng'owa abatuukirivu obutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli. 11K1I008.033 When thy people Israel be smitten down before the enemy, because they have sinned against thee, and shall turn again to thee, and confess thy name, and pray, and make supplication unto thee in this house: %%% Abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga ne bagwa wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; bwe banaakukyukiranga nate ne baatula erinnya lyo ne basaba ne bakwegayirira mu nnyumba eno: 11K1I008.034 Then hear thou in heaven, and forgive the sin of thy people Israel, and bring them again unto the land which thou gavest unto their fathers. %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwe ekibi ky'abantu bo Isiraeri, obakomyewo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe. 11K1I008.035 When heaven is shut up, and there is no rain, because they have sinned against thee; if they pray toward this place, and confess thy name, and turn from their sin, when thou afflictest them: %%% Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga; 11K1I008.036 Then hear thou in heaven, and forgive the sin of thy servants, and of thy people Israel, that thou teach them the good way wherein they should walk, and give rain upon thy land, which thou hast given to thy people for an inheritance. %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu osonyiwe ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'obayigiriza ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweereze enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika. 11K1I008.037 If there be in the land famine, if there be pestilence, blasting, mildew, locust, or if there be caterpiller; if their enemy besiege them in the land of their cities; whatsoever plague, whatsoever sickness there be; %%% Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli ne bw'anaafaanananga atya, n'endwadde ne bw'eneefaanananga etya; 11K1I008.038 What prayer and supplication soever be made by any man, or by all thy people Israel, which shall know every man the plague of his own heart, and spread forth his hands toward this house: %%% kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abalimanya buli muntu endwadde ey'omu mutima gwe ye, n'ayanjuluza emikono gye eri ennyumba eno: 11K1I008.039 Then hear thou in heaven thy dwelling place, and forgive, and do, and give to every man according to his ways, whose heart thou knowest; (for thou, even thou only, knowest the hearts of all the children of men;) %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu osonyiwe okole osasule buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu bonna:) 11K1I008.040 That they may fear thee all the days that they live in the land which thou gavest unto our fathers. %%% balyoke bakutye ennaku zonna ze banaamalanga mu nsi gye wawa bajjajjaffe. 11K1I008.041 Moreover concerning a stranger, that is not of thy people Israel, but cometh out of a far country for thy name's sake; %%% Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo; 11K1I008.042 (For they shall hear of thy great name, and of thy strong hand, and of thy stretched out arm;) when he shall come and pray toward this house; %%% (kubanga baliwulira eby'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa;) bw'anajjanga n'asaba ng'atunuulira ennyumba eno; 11K1I008.043 Hear thou in heaven thy dwelling place, and do according to all that the stranger calleth to thee for: that all people of the earth may know thy name, to fear thee, as do thy people Israel; and that they may know that this house, which I have builded, is called by thy name. %%% owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo. 11K1I008.044 If thy people go out to battle against their enemy, whithersoever thou shalt send them, and shall pray unto the LORD toward the city which thou hast chosen, and toward the house that I have built for thy name: %%% Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne basaba Mukama nga batunuulira ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo: 11K1I008.045 Then hear thou in heaven their prayer and their supplication, and maintain their cause. %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe owoze ensonga yaabwe. 11K1I008.046 If they sin against thee, (for there is no man that sinneth not,) and thou be angry with them, and deliver them to the enemy, so that they carry them away captives unto the land of the enemy, far or near; %%% Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'abalabe oba wala oba kumpi; 11K1I008.047 Yet if they shall bethink themselves in the land whither they were carried captives, and repent, and make supplication unto thee in the land of them that carried them captives, saying, We have sinned, and have done perversely, we have committed wickedness; %%% naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayiririra mu nsi y'abo abaabatwala nga basibe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo; 11K1I008.048 And so return unto thee with all their heart, and with all their soul, in the land of their enemies, which led them away captive, and pray unto thee toward their land, which thou gavest unto their fathers, the city which thou hast chosen, and the house which I have built for thy name: %%% bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo; 11K1I008.049 Then hear thou their prayer and their supplication in heaven thy dwelling place, and maintain their cause, %%% kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu owoze ensonga yaabwe; 11K1I008.050 And forgive thy people that have sinned against thee, and all their transgressions wherein they have transgressed against thee, and give them compassion before them who carried them captive, that they may have compassion on them: %%% osonyiwe abantu bo abakwonoonye n'okusobya kwabwe kwonna kwe bakusobya; obawe okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, babasaasire: 11K1I008.051 For they be thy people, and thine inheritance, which thou broughtest forth out of Egypt, from the midst of the furnace of iron: %%% kubanga be bantu bo era bwe busika bwo bwe waggya mu Misiri, wakati mu kikoomi eky'ekyuma; 11K1I008.052 That thine eyes may be open unto the supplication of thy servant, and unto the supplication of thy people Israel, to hearken unto them in all that they call for unto thee. %%% amaaso go gazibukenga eri okwegayirira kw'omuddu wo n'eri okwegayirira kw'abantu bo Isiraeri okubawuliranga buli bwe banaakukaabiranga. 11K1I008.053 For thou didst separate them from among all the people of the earth, to be thine inheritance, as thou spakest by the hand of Moses thy servant, when thou broughtest our fathers out of Egypt, O LORD God. %%% Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi okuba obusika bwo, nga bwe wayogera n'omukono gwa Musa omuddu wo, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ai Mukama Katonda. 11K1I008.054 And it was so, that when Solomon had made an end of praying all this prayer and supplication unto the LORD, he arose from before the altar of the LORD, from kneeling on his knees with his hands spread up to heaven. %%% Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okusaba ebyo byonna n'okwegayirira eri Mukama, n'agolokoka n'ava mu maaso g'ekyoto kya Mukama n'ava ku maviivi ge ge yali afukamiddeko, ng'ayanjuluzizza engalo ze eri eggulu. 11K1I008.055 And he stood, and blessed all the congregation of Israel with a loud voice, saying, %%% N'ayimirira n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa n'eddoboozi ddene ng'ayogera nti 11K1I008.056 Blessed be the LORD, that hath given rest unto his people Israel, according to all that he promised: there hath not failed one word of all his good promise, which he promised by the hand of Moses his servant. %%% Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isiraeri okuwummula, nga byonna bwe biri bye yasuubiza; tewali kigambo na kimu kibuze ku birungi bye yasuubiza n'omukono gwa Musa omuddu we. 11K1I008.057 The LORD our God be with us, as he was with our fathers: let him not leave us, nor forsake us: %%% Mukama Katonda waffe abeerenga naffe nga bwe yabanga ne bajjajjaffe; aleme okutuleka newakubadde okutwabulira: 11K1I008.058 That he may incline our hearts unto him, to walk in all his ways, and to keep his commandments, and his statutes, and his judgments, which he commanded our fathers. %%% alyoke akyuse emitima gyaffe gy'ali okutambuliranga mu makubo ge gonna n'okukwatanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye bye yalagira bajjajjaffe. 11K1I008.059 And let these my words, wherewith I have made supplication before the LORD, be nigh unto the LORD our God day and night, that he maintain the cause of his servant, and the cause of his people Israel at all times, as the matter shall require: %%% N'ebigambo byange bino bye nneegayiridde mu maaso ga Mukama bibeerenga kumpi Mukama Katonda waffe emisana n'ekiro, awoze ensonga y'omuddu we n'ensonga y'abantu be Isiraeri, nga buli lunaku bwe lunaayagalanga: 11K1I008.060 That all the people of the earth may know that the LORD is God, and that there is none else. %%% amawanga gonna ag'oku nsi bamanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala. 11K1I008.061 Let your heart therefore be perfect with the LORD our God, to walk in his statutes, and to keep his commandments, as at this day. %%% Kale omutima gwammwe gube mutuukirivu eri Mukama Katonda waffe okutambuliranga mu mateeka ge n'okukwatanga ebiragiro bye nga leero. 11K1I008.062 And the king, and all Israel with him, offered sacrifice before the LORD. %%% Awo kabaka ne Isiraeri yenna wamu naye ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. 11K1I008.063 And Solomon offered a sacrifice of peace offerings, which he offered unto the LORD, two and twenty thousand oxen, and an hundred and twenty thousand sheep. So the king and all the children of Israel dedicated the house of the LORD. %%% Sulemaani n'awaayo okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe gye yawaayo eri Mukama ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Bwe batyo kabaka n'abaana ba Isiraeri bonna ne bawonga ennyumba ya Mukama. 11K1I008.064 The same day did the king hallow the middle of the court that was before the house of the LORD: for there he offered burnt offerings, and meat offerings, and the fat of the peace offerings: because the brasen altar that was before the LORD was too little to receive the burnt offerings, and meat offerings, and the fat of the peace offerings. %%% Ku lunaku olwo kabaka kwe yatukuliza wakati w'oluggya olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; kubanga eyo gye yaweerayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu g'ebyo ebiweebwayo olw'emirembe; kubanga ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama kyali kiyinze obutono ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu g'ebiweebwayo olw'emirembe ne bitagyako. 11K1I008.065 And at that time Solomon held a feast, and all Israel with him, a great congregation, from the entering in of Hamath unto the river of Egypt, before the LORD our God, seven days and seven days, even fourteen days. %%% Awo Sulemaani n'afumba embaga eyo mu biro ebyo ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, ennaku omusanvu n'ennaku omusanvu, ze nnaku ekkumi n'ennya. 11K1I008.066 On the eighth day he sent the people away: and they blessed the king, and went unto their tents joyful and glad of heart for all the goodness that the LORD had done for David his servant, and for Israel his people. %%% Ku lunaku olw'omunaana n'asindika abantu, ne basabira kabaka omukisa, ne bagenda mu weema zaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi bwonna Mukama bwe yali alaze Dawudi omuddu we ne Isiraeri abantu be. 11K1I009.001 And it came to pass, when Solomon had finished the building of the house of the LORD, and the king's house, and all Solomon's desire which he was pleased to do, %%% Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala bye yasiima okukola, 11K1I009.002 That the LORD appeared to Solomon the second time, as he had appeared unto him at Gibeon. %%% awo Mukama n'alabikira Sulemaani omulundi ogw'okubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. 11K1I009.003 And the LORD said unto him, I have heard thy prayer and thy supplication, that thou hast made before me: I have hallowed this house, which thou hast built, to put my name there for ever; and mine eyes and mine heart shall be there perpetually. %%% Awo Mukama n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza ennyumba eno gy'ozimbye okuteeka omwo erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeerangayo obutayosangawo. 11K1I009.004 And if thou wilt walk before me, as David thy father walked, in integrity of heart, and in uprightness, to do according to all that I have commanded thee, and wilt keep my statutes and my judgments: %%% Naawe bw'onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga n'omutima ogw'amazima n'obugolokofu okukolanga nga byonna bwe biri bye nnaakulagira, era bw'onookwatanga amateeka gange n'emisango gyange; 11K1I009.005 Then I will establish the throne of thy kingdom upon Israel for ever, as I promised to David thy father, saying, There shall not fail thee a man upon the throne of Israel. %%% awo naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo ku Isiraeri emirembe gyonna; nga bwe nnasuubiza Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja wa kutuula ku ntebe ya Isiraeri. 11K1I009.006 But if ye shall at all turn from following me, ye or your children, and will not keep my commandments and my statutes which I have set before you, but go and serve other gods, and worship them: %%% Naye bwe munaakyukanga obutangoberera nze, mmwe oba baana bammwe, ne mutakwata biragiro byange n'amateeka gange bye nnateeka mu maaso gammwe, naye ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza; 11K1I009.007 Then will I cut off Israel out of the land which I have given them; and this house, which I have hallowed for my name, will I cast out of my sight; and Israel shall be a proverb and a byword among all people: %%% kale ndimalawo Isiraeri mu nsi gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigiggyawo mu maaso gange; kale Isiraeri aliba lugero na kigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna; 11K1I009.008 And at this house, which is high, every one that passeth by it shall be astonished, and shall hiss; and they shall say, Why hath the LORD done thus unto this land, and to this house? %%% era ennyumba eno newakubadde nga mpanvu bw'eti, naye buli anaagiyitangako aneewuunyanga n'asooza; era balyogera nti Mukama kiki ekimukozezza ensi eno bwe kityo n'ennyumba eno? 11K1I009.009 And they shall answer, Because they forsook the LORD their God, who brought forth their fathers out of the land of Egypt, and have taken hold upon other gods, and have worshipped them, and served them: therefore hath the LORD brought upon them all this evil. %%% Awo baliddamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda waabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza; Mukama kyavudde abaleetako obubi buno bwonna. 11K1I009.010 And it came to pass at the end of twenty years, when Solomon had built the two houses, the house of the LORD, and the king's house, %%% Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba zombi, ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, 11K1I009.011 (Now Hiram the king of Tyre had furnished Solomon with cedar trees and fir trees, and with gold, according to all his desire,) that then king Solomon gave Hiram twenty cities in the land of Galilee. %%% (era Kiramu kabaka w'e Ttuulo yali amulabidde Sulemaani emivule n'emiberosi n'ezaabu nga byonna bwe byali bye yayagala,) awo kabaka Sulemaani n'awa Kiramu ebibuga amakumi abiri mu nsi y'e Ggaliraaya. 11K1I009.012 And Hiram came out from Tyre to see the cities which Solomon had given him; and they pleased him not. %%% Awo Kiramu n'afuluma mu Ttuulo okulambula ebibuga Sulemaani by'amuwadde: n'atabisiima. 11K1I009.013 And he said, What cities are these which thou hast given me, my brother? And he called them the land of Cabul unto this day. %%% N'ayogera nti Bibuga ki bino by'ompadde, muganda wange? N'abiyita ensi Kabuli ne leero. 11K1I009.014 And Hiram sent to the king sixscore talents of gold. %%% Awo Kiramu n'aweereza kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri. 11K1I009.015 And this is the reason of the levy which king Solomon raised; for to build the house of the LORD, and his own house, and Millo, and the wall of Jerusalem, and Hazor, and Megiddo, and Gezer. %%% Era eno ye nsonga y'okusolooza kabaka Sulemaani kwe yasolooza; okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ne Miiro ne bbugwe wa Yerusaalemi ne Kazoli ne Megiddo ne Gezeri. 11K1I009.016 For Pharaoh king of Egypt had gone up, and taken Gezer, and burnt it with fire, and slain the Canaanites that dwelt in the city, and given it for a present unto his daughter, Solomon's wife. %%% Falaawo kabaka w'e Misiri yali atabadde n'amenya Gezeri n'akyokya omuliro n'atta Abakanani abatuula mu kibuga n'akiwa muwala we muka Sulemaani okuba omugabo. 11K1I009.017 And Solomon built Gezer, and Bethhoron the nether, %%% Sulemaani n'azimba Gezeri ne Besukolooni ekya wansi 11K1I009.018 And Baalath, and Tadmor in the wilderness, in the land, %%% ne Baalasi ne Tamali mu ddungu, mu nsi, 11K1I009.019 And all the cities of store that Solomon had, and cities for his chariots, and cities for his horsemen, and that which Solomon desired to build in Jerusalem, and in Lebanon, and in all the land of his dominion. %%% n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina n'ebibuga eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi n'ebyo Sulemaani bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi olw'okwesanyusa ne ku Lebanooni ne mu nsi yonna gye yatwala. 11K1I009.020 And all the people that were left of the Amorites, Hittites, Perizzites, Hivites, and Jebusites, which were not of the children of Israel, %%% Abantu bonna abaali basigadde ku b'Amoli n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku baana ba Isiraeri; 11K1I009.021 Their children that were left after them in the land, whom the children of Israel also were not able utterly to destroy, upon those did Solomon levy a tribute of bondservice unto this day. %%% abaana baabwe abaasigala oluvannyuma lwabwe mu nsi abaana ba Isiraeri be bataayinza kuzikiririza ddala, abo Sulemaani be yasoloozaako abaddu ne leero. 11K1I009.022 But of the children of Israel did Solomon make no bondmen: but they were men of war, and his servants, and his princes, and his captains, and rulers of his chariots, and his horsemen. %%% Naye Sulemaani teyafuula baddu ku baana ba Isiraeri; naye baabanga basajja balwanyi n'abaweereza be n'abakulu be n'abaami be era abaafuganga amagaali ge n'abasajja be abeebagalanga embalaasi. 11K1I009.023 These were the chief of the officers that were over Solomon's work, five hundred and fifty, which bare rule over the people that wrought in the work. %%% Abo be baali abaami abakulu abaalabirira omulimu gwa Sulemaani, ebikumi bitaano mu ataano abaafuganga abantu abaakola omulimu. 11K1I009.024 But Pharaoh's daughter came up out of the city of David unto her house which Solomon had built for her: then did he build Millo. %%% Naye muwala wa Falaawo n'ava mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka n'ajja mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde: awo n'azimba Miiro. 11K1I009.025 And three times in a year did Solomon offer burnt offerings and peace offerings upon the altar which he built unto the LORD, and he burnt incense upon the altar that was before the LORD. So he finished the house. %%% Era Sulemaani n'awangayo emirundi esatu buli mwaka ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, ng'ayotereza obubaane wamu ku kyoto ekyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamala ennyumba. 11K1I009.026 And king Solomon made a navy of ships in Eziongeber, which is beside Eloth, on the shore of the Red sea, in the land of Edom. %%% Awo kabaka Sulemaani n'asibira empingu eya malikebu e Eziyonigeba ekiriraanye e Erosi ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu mu nsi ey'e Edomu. 11K1I009.027 And Hiram sent in the navy his servants, shipmen that had knowledge of the sea, with the servants of Solomon. %%% Kiramu n'aweerereza mu mpingu abaddu be abalunnyanja abamanyi ennyanja, wamu n'abaddu ba Sulemaani. 11K1I009.028 And they came to Ophir, and fetched from thence gold, four hundred and twenty talents, and brought it to king Solomon. %%% Ne bajja e Ofiri ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu abiri ne bagireeta eri kabaka Sulemaani. 11K1I010.001 And when the queen of Sheba heard of the fame of Solomon concerning the name of the LORD, she came to prove him with hard questions. %%% Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani olw'erinnya lya Mukama, n'ajja okumukema n'ebibuuzibwa ebizibu. 11K1I010.002 And she came to Jerusalem with a very great train, with camels that bare spices, and very much gold, and precious stones: and when she was come to Solomon, she communed with him of all that was in her heart. %%% N'ajja e Yerusaalemi ng'alina abaddu bangi nnyo n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe. 11K1I010.003 And Solomon told her all her questions: there was not any thing hid from the king, which he told her not. %%% Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewaali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza. 11K1I010.004 And when the queen of Sheba had seen all Solomon's wisdom, and the house that he had built, %%% Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi gonna aga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba, 11K1I010.005 And the meat of his table, and the sitting of his servants, and the attendance of his ministers, and their apparel, and his cupbearers, and his ascent by which he went up unto the house of the LORD; there was no more spirit in her. %%% n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe n'abasenero be n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye. 11K1I010.006 And she said to the king, It was a true report that I heard in mine own land of thy acts and of thy wisdom. %%% N'agamba kabaka nti Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange kyali kya mazima eky'ebikolwa byo n'amagezi go. 11K1I010.007 Howbeit I believed not the words, until I came, and mine eyes had seen it: and, behold, the half was not told me: thy wisdom and prosperity exceedeth the fame which I heard. %%% Era naye sakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe najja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu: amagezi go n'omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira. 11K1I010.008 Happy are thy men, happy are these thy servants, which stand continually before thee, and that hear thy wisdom. %%% Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go. 11K1I010.009 Blessed be the LORD thy God, which delighted in thee, to set thee on the throne of Israel: because the LORD loved Israel for ever, therefore made he thee king, to do judgment and justice. %%% Mukama Katonda wo yeebazibwe akusanyukira okukuteeka ku ntebe ya Isiraeri: kubanga Mukama yayagala Isiraeri emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okukola eby'ensonga n'eby'obutuukirivu. 11K1I010.010 And she gave the king an hundred and twenty talents of gold, and of spices very great store, and precious stones: there came no more such abundance of spices as these which the queen of Sheba gave to king Solomon. %%% Awo n'awa kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri, n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: tewajja lwa kubiri bya kaloosa bingi ebyenkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi w'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani. 11K1I010.011 And the navy also of Hiram, that brought gold from Ophir, brought in from Ophir great plenty of almug trees, and precious stones. %%% Era n'empingu ya Kiramu eyaleeta zaabu okuva e Ofiri, n'eggya e Ofiri emitoogo mingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi. 11K1I010.012 And the king made of the almug trees pillars for the house of the LORD, and for the king's house, harps also and psalteries for singers: there came no such almug trees, nor were seen unto this day. %%% Kabaka n'afuula emitoogo empagi z'ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: tewajja mitoogo egifaanana bwe gityo so tegyalabika ne leero. 11K1I010.013 And king Solomon gave unto the queen of Sheba all her desire, whatsoever she asked, beside that which Solomon gave her of his royal bounty. So she turned and went to her own country, she and her servants. %%% Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa olw'ekisa kye ekya kabaka. Awo n'akyuka n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be. 11K1I010.014 Now the weight of gold that came to Solomon in one year was six hundred threescore and six talents of gold, %%% Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga, 11K1I010.015 Beside that he had of the merchantmen, and of the traffick of the spice merchants, and of all the kings of Arabia, and of the governors of the country. %%% obutassaako eyo abasuubuzi gye baaleetanga n'abatunzi gye baatundanga ne bakabaka bonna ab'eggwanga ettabule n'abakulu b'ensi. 11K1I010.016 And king Solomon made two hundred targets of beaten gold: six hundred shekels of gold went to one target. %%% Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo bikumi bibiri bwa zaabu mpeese: buli kagabo n'akawaako sekeri za zaabu lukaaga. 11K1I010.017 And he made three hundred shields of beaten gold; three pound of gold went to one shield: and the king put them in the house of the forest of Lebanon. %%% N'akola engabo ebikumi bisatu bya zaabu mpeese; buli ngabo n'agiwaako laateri ssatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni. 11K1I010.018 Moreover the king made a great throne of ivory, and overlaid it with the best gold. %%% Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi nnyo nnyini. 11K1I010.019 The throne had six steps, and the top of the throne was round behind: and there were stays on either side on the place of the seat, and two lions stood beside the stays. %%% Entebe yaliko amadaala mukaaga, era entebe waggulu waayo yali nneekulunguivu ennyuma; era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono. 11K1I010.020 And twelve lions stood there on the one side and on the other upon the six steps: there was not the like made in any kingdom. %%% N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga tewaali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana. 11K1I010.021 And all king Solomon's drinking vessels were of gold, and all the vessels of the house of the forest of Lebanon were of pure gold; none were of silver: it was nothing accounted of in the days of Solomon. %%% Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: tewaali bya ffeeza; teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani; 11K1I010.022 For the king had at sea a navy of Tharshish with the navy of Hiram: once in three years came the navy of Tharshish, bringing gold, and silver, ivory, and apes, and peacocks. %%% Kubanga kabaka yalina ku nnyanja empingu eya malikebu ey'e Talusiisi wamu n'empingu ya Kiramu; empingu ey'e Talusiisi yajjanga mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge. 11K1I010.023 So king Solomon exceeded all the kings of the earth for riches and for wisdom. %%% Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi. 11K1I010.024 And all the earth sought to Solomon, to hear his wisdom, which God had put in his heart. %%% Ensi yonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge, Katonda ge yali atadde mu mutima gwe. 11K1I010.025 And they brought every man his present, vessels of silver, and vessels of gold, and garments, and armour, and spices, horses, and mules, a rate year by year. %%% Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka. 11K1I010.026 And Solomon gathered together chariots and horsemen: and he had a thousand and four hundred chariots, and twelve thousand horsemen, whom he bestowed in the cities for chariots, and with the king at Jerusalem. %%% Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abasajja abeebagala embalaasi; era yalina amagaali lukumi mu ebikumi bina n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awaali kabaka e Yerusaalemi. 11K1I010.027 And the king made silver to be in Jerusalem as stones, and cedars made he to be as the sycomore trees that are in the vale, for abundance. %%% Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi. 11K1I010.028 And Solomon had horses brought out of Egypt, and linen yarn: the king's merchants received the linen yarn at a price. %%% N'embalaasi Sulemaani ze yalina zaggibwa mu Misiri: n'abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo. 11K1I010.029 And a chariot came up and went out of Egypt for six hundred shekels of silver, and an horse for an hundred and fifty: and so for all the kings of the Hittites, and for the kings of Syria, did they bring them out by their means. %%% Era eggaali lyalinnyanga nga liva mu Misiri nga lijjirira sekeri lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bakabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bakabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe. 11K1I011.001 But king Solomon loved many strange women, together with the daughter of Pharaoh, women of the Moabites, Ammonites, Edomites, Zidonians, and Hittites; %%% Era kabaka Sulemaani n'ayagala abakazi bangi bannaggwanga wamu ne muwala wa Falaawo, abakazi ab'oku Bamowaabu n'Abamoni n'Abaedomu n'Abasidoni n'Abakiiti; 11K1I011.002 Of the nations concerning which the LORD said unto the children of Israel, Ye shall not go in to them, neither shall they come in unto you: for surely they will turn away your heart after their gods: Solomon clave unto these in love. %%% ku mawanga Mukama ge yagambako abaana ba Isiraeri nti Temugendanga mu bo so tebajjanga bo mu mmwe: kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe: Sulemaani ne yeegatta nabo ng'abaagala. 11K1I011.003 And he had seven hundred wives, princesses, and three hundred concubines: and his wives turned away his heart. %%% Era yalina abakazi lusanvu, abambejja, n'abazaana ebikumi bisatu: bakazi be ne bakyusa omutima gwe. 11K1I011.004 For it came to pass, when Solomon was old, that his wives turned away his heart after other gods: and his heart was not perfect with the LORD his God, as was the heart of David his father. %%% Kubanga olwatuuka Sulemaani ng'akaddiye bakazi be ne bakyusa omutima gwe okugoberera bakatonda abalala: omutima gwe ne gutatuukirira eri Mukama Katonda we nga bwe gwali omutima gwa Dawudi kitaawe. 11K1I011.005 For Solomon went after Ashtoreth the goddess of the Zidonians, and after Milcom the abomination of the Ammonites. %%% Kubanga Sulemaani n'agoberera Asutaloosi, katonda omukazi ow'Abasidoni, ne Mirukomu omuzizo gw'Abamoni. 11K1I011.006 And Solomon did evil in the sight of the LORD, and went not fully after the LORD, as did David his father. %%% Era Sulemaani n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, n'atagobererera ddala Mukama, nga Dawudi kitaawe bwe yakola. 11K1I011.007 Then did Solomon build an high place for Chemosh, the abomination of Moab, in the hill that is before Jerusalem, and for Molech, the abomination of the children of Ammon. %%% Awo Sulemaani n'azimbira Kemosi ekifo ekigulumivu, gwe muzizo gwa Mowaabu, ku lusozi olwolekera Yerusaalemi, ne Moleki omuzizo gw'abaana ba Amoni. 11K1I011.008 And likewise did he for all his strange wives, which burnt incense and sacrificed unto their gods. %%% Era bwe yakolera bw'atyo bakazi be bonna bannaggwanga abaayotezanga obubaane ne bawaayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe. 11K1I011.009 And the LORD was angry with Solomon, because his heart was turned from the LORD God of Israel, which had appeared unto him twice, %%% Mukama n'asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwakyuka okuva ku Mukama Katonda wa Isiraeri eyali yaakamulabikira emirundi ebiri, 11K1I011.010 And had commanded him concerning this thing, that he should not go after other gods: but he kept not that which the LORD commanded. %%% era eyamulagira olw'ekigambo ekyo aleme okugoberera bakatonda abalala, naye n'atakwata ekyo Mukama kye yalagira. 11K1I011.011 Wherefore the LORD said unto Solomon, Forasmuch as this is done of thee, and thou hast not kept my covenant and my statutes, which I have commanded thee, I will surely rend the kingdom from thee, and will give it to thy servant. %%% Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti Kubanga okoze kino so tokutte ndagaano yange n'amateeka gange bye nnakulagira, sirirema kukuyuzaako obwakabaka ne mbuwa omuddu wo. 11K1I011.012 Notwithstanding in thy days I will not do it for David thy father's sake: but I will rend it out of the hand of thy son. %%% Naye sirikola bwe ntyo ku mirembe gyo ku lwa Dawudi kitaawo: naye ndibuyuza okubuggya mu mukono gw'omwana wo. 11K1I011.013 Howbeit I will not rend away all the kingdom; but will give one tribe to thy son for David my servant's sake, and for Jerusalem's sake which I have chosen. %%% Naye siriyuzaako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa omwana wo ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange era ku lwa Yerusaalemi kye nneeroboza. 11K1I011.014 And the LORD stirred up an adversary unto Solomon, Hadad the Edomite: he was of the king's seed in Edom. %%% Awo Mukama n'ayimusiza Sulemaani omulabe, Kadadi Omwedomu: yali wa ku zzadde lya kabaka mu Edomu. 11K1I011.015 For it came to pass, when David was in Edom, and Joab the captain of the host was gone up to bury the slain, after he had smitten every male in Edom; %%% Kubanga olwatuuka Dawudi bwe yali mu Edomu ne Yowaabu omukulu w'eggye ng'ayambuse okuziika abafu era ng'asse buli musajja mu Edomu; 11K1I011.016 (For six months did Joab remain there with all Israel, until he had cut off every male in Edom:) %%% (kubanga Yowaabu ne Isiraeri yenna baamalayo emyezi mukaaga okutuusa lwe yamalawo buli musajja mu Edomu;) 11K1I011.017 That Hadad fled, he and certain Edomites of his father's servants with him, to go into Egypt; Hadad being yet a little child. %%% awo Kadadi n'adduka, ye n'Abaedomu abamu ab'oku baddu ba kitaawe wamu naye okugenda mu Misiri: Kadadi ng'akyali mwana muto. 11K1I011.018 And they arose out of Midian, and came to Paran: and they took men with them out of Paran, and they came to Egypt, unto Pharaoh king of Egypt; which gave him an house, and appointed him victuals, and gave him land. %%% Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani ne bajja e Palani: ne batwala wamu nabo abasajja nga babaggya e Palani ne bajja e Misiri eri Falaawo kabaka w'e Misiri; oyo n'amuwa ennyumba n'amulagira ebyokulya n'amuwa ensi. 11K1I011.019 And Hadad found great favour in the sight of Pharaoh, so that he gave him to wife the sister of his own wife, the sister of Tahpenes the queen. %%% Awo Kadadi n'aganja nnyo mu maaso ga Falaawo n'okumuwa n'amuwa okuwasa muganda wa mukazi we ye, muganda wa Tapenesi kaddulubaale. 11K1I011.020 And the sister of Tahpenes bare him Genubath his son, whom Tahpenes weaned in Pharaoh's house: and Genubath was in Pharaoh's household among the sons of Pharaoh. %%% Awo muganda wa Tapenesi n'amuzaalira Genubasi mutabani we Tapenesi gwe yaggira ku mabeere mu nnyumba ya Falaawo: Genubasi n'abeera mu nnyumba ya Falaawo mu batabani ba Falaawo. 11K1I011.021 And when Hadad heard in Egypt that David slept with his fathers, and that Joab the captain of the host was dead, Hadad said to Pharaoh, Let me depart, that I may go to mine own country. %%% Awo Kadadi bwe yawulirira mu Misiri nga Dawudi yeebakidde wamu ne bajjajjaabe, era nga Yowaabu omukulu w'eggye ng'afudde, Kadadi n'agamba Falaawo nti Ka ŋŋende ntuuke mu nsi y'ewaffe. 11K1I011.022 Then Pharaoh said unto him, But what hast thou lacked with me, that, behold, thou seekest to go to thine own country? And he answered, Nothing: howbeit let me go in any wise. %%% Awo Falaawo n'amugamba nti Naye kiki ekyakubula ng'oli nange n'okwagala n'oyagala, laba, okugenda mu nsi y'ewammwe? N'addamu nti Tewali kintu: naye leka mmale gagenda. 11K1I011.023 And God stirred him up another adversary, Rezon the son of Eliadah, which fled from his lord Hadadezer king of Zobah: %%% Awo Katonda n'amuyimusizaako omulabe omulala, Lezoni mutabani wa Eriyadda eyali adduse mukama we Kadadezeri kabaka w'e Zoba: 11K1I011.024 And he gathered men unto him, and became captain over a band, when David slew them of Zobah: and they went to Damascus, and dwelt therein, and reigned in Damascus. %%% n'akuŋŋaanya abantu gy'ali, n'afuuka omukulu w'ekibiina Dawudi bwe yatta ab'e Zoba: ne bagenda e Ddamasiko ne babeera omwo, ne bafugira mu Ddamasiko. 11K1I011.025 And he was an adversary to Israel all the days of Solomon, beside the mischief that Hadad did: and he abhorred Israel, and reigned over Syria. %%% N'aba mulabe eri Isiraeri emirembe gyonna egya Sulemaani obutassaako bubi Kadadi bwe yakola: n'akyawa Isiraeri n'afuga Obusuuli. 11K1I011.026 And Jeroboam the son of Nebat, an Ephrathite of Zereda, Solomon's servant, whose mother's name was Zeruah, a widow woman, even he lifted up his hand against the king. %%% Awo Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow'e Zereda, omuddu wa Sulemaani, nnyina erinnya lye Zeruwa namwandu, era naye n'ayimusiza kabaka omukono. 11K1I011.027 And this was the cause that he lifted up his hand against the king: Solomon built Millo, and repaired the breaches of the city of David his father. %%% Era eno ye yali ensonga kyeyava ayimusiza kabaka omukono; Sulemaani yazimba Miiro n'aziba ekituli eky'omu kibuga kya Dawudi kitaawe. 11K1I011.028 And the man Jeroboam was a mighty man of valour: and Solomon seeing the young man that he was industrious, he made him ruler over all the charge of the house of Joseph. %%% Era omusajja oyo Yerobowaamu yali musajja wa maanyi omuzira: Sulemaani n'alaba omulenzi oyo nga munyiikivu, n'amutikkira emirimu gyonna egy'ennyumba ya Yusufu. 11K1I011.029 And it came to pass at that time when Jeroboam went out of Jerusalem, that the prophet Ahijah the Shilonite found him in the way; and he had clad himself with a new garment; and they two were alone in the field: %%% Awo olwatuuka mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yava mu Yerusaalemi, nnabbi Akiya Omusiiro n'amusanga mu kkubo; era Akiya yali ayambadde ekyambalo ekiggya; awo bombi ne baba bokka ku ttale. 11K1I011.030 And Ahijah caught the new garment that was on him, and rent it in twelve pieces: %%% Akiya n'akwata ku kyambalo ekiggya kye yali ayambadde n'akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. 11K1I011.031 And he said to Jeroboam, Take thee ten pieces: for thus saith the LORD, the God of Israel, Behold, I will rend the kingdom out of the hand of Solomon, and will give ten tribes to thee: %%% N'agamba Yerobowaamu nti Weetwalire ebitundu kkumi: kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndiyuza mu bwakabaka ne mbuggya mu mukono gwa Sulemaani ne nkuwa ggwe ebika kkumi: 11K1I011.032 (But he shall have one tribe for my servant David's sake, and for Jerusalem's sake, the city which I have chosen out of all the tribes of Israel:) %%% (naye aliba n'ekika kimu ku lw'omuddu wange Dawudi ne ku lwa Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri:) 11K1I011.033 Because that they have forsaken me, and have worshipped Ashtoreth the goddess of the Zidonians, Chemosh the god of the Moabites, and Milcom the god of the children of Ammon, and have not walked in my ways, to do that which is right in mine eyes, and to keep my statutes and my judgments, as did David his father. %%% kubanga bandese ne basinza Asutaloosi katonda omukazi ow'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni; so tebatambulidde mu makubo gange okukola ebiri mu maaso gange ebirungi n'okukwata amateeka gange n'emisango gyange nga bwe yakolanga Dawudi kitaawe. 11K1I011.034 Howbeit I will not take the whole kingdom out of his hand: but I will make him prince all the days of his life for David my servant's sake, whom I chose, because he kept my commandments and my statutes: %%% Naye siriggya bwakabaka bwonna mu mukono gwe: naye ndimufuula omukulu ennaku zonna ez'obulamu bwe ku lwa Dawudi omuddu wange gwe nnalonda kubanga yakwata ebiragiro byange n'amateeka gange: 11K1I011.035 But I will take the kingdom out of his son's hand, and will give it unto thee, even ten tribes. %%% naye ndiggya obwakabaka mu mukono gwa mutabani we ne mbuwa ggwe, ebika kkumi. 11K1I011.036 And unto his son will I give one tribe, that David my servant may have a light alway before me in Jerusalem, the city which I have chosen me to put my name there. %%% Ne mutabani we ndimuwa ekika kimu, Dawudi omuddu wange abeerenga n'ettabaaza ennaku zonna mu maaso gange mu Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza okuteeka omwo erinnya lyange. 11K1I011.037 And I will take thee, and thou shalt reign according to all that thy soul desireth, and shalt be king over Israel. %%% Era ndikutwala, naawe olifuga nga byonna bwe biriba emmeeme yo by'eryagala, era oliba kabaka wa Isiraeri. 11K1I011.038 And it shall be, if thou wilt hearken unto all that I command thee, and wilt walk in my ways, and do that is right in my sight, to keep my statutes and my commandments, as David my servant did; that I will be with thee, and build thee a sure house, as I built for David, and will give Israel unto thee. %%% Awo olulituuka bw'onoowuliranga byonna bye nkulagira n'otambuliranga mu makubo gange n'okolanga ebyo ebiri mu maaso gange ebirungi, okukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi omuddu wange bwe yakolanga; kale naabeeranga wamu naawe, era ndikuzimbira ennyumba ey'enkalakkalira nga bwe nnazimbira Dawudi, era ndikuwa Isiraeri. 11K1I011.039 And I will for this afflict the seed of David, but not for ever. %%% Era kyendiva mbonyabonya ezzadde lya Dawudi naye siribabonyezabonyeza emirembe gyonna. 11K1I011.040 Solomon sought therefore to kill Jeroboam. And Jeroboam arose, and fled into Egypt, unto Shishak king of Egypt, and was in Egypt until the death of Solomon. %%% Sulemaani kyeyava asala amagezi okutta Yerobowaamu; naye Yerobowaamu n'agolokoka n'addukira mu Misiri eri Sisaki kabaka w'e Misiri, n'abeera mu Misiri okutuusa Sulemaani lwe yafa. 11K1I011.041 And the rest of the acts of Solomon, and all that he did, and his wisdom, are they not written in the book of the acts of Solomon? %%% Era ebikolwa byonna ebirala ebya Sulemaani ne byonna bye yakola n'amagezi ge tebyawandiikibwa mu kitabo ky'ebikolwa bya Sulemaani? 11K1I011.042 And the time that Solomon reigned in Jerusalem over all Israel was forty years. %%% N'ebiro Sulemaani bye yafugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi byali emyaka ana. 11K1I011.043 And Solomon slept with his fathers, and was buried in the city of David his father: and Rehoboam his son reigned in his stead. %%% Awo Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: awo Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I012.001 And Rehoboam went to Shechem: for all Israel were come to Shechem to make him king. %%% Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu akumufuula kabaka. 11K1I012.002 And it came to pass, when Jeroboam the son of Nebat, who was yet in Egypt, heard of it, (for he was fled from the presence of king Solomon, and Jeroboam dwelt in Egypt;) %%% Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe Yakiwulira; (kubanga yali akyali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani, era Yerobowaamu n'atuula mu Misiri), 11K1I012.003 That they sent and called him. And Jeroboam and all the congregation of Israel came, and spake unto Rehoboam, saying, %%% ne batuma ne bamuyita; awo Yerobowaamu n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti 11K1I012.004 Thy father made our yoke grievous: now therefore make thou the grievous service of thy father, and his heavy yoke which he put upon us, lighter, and we will serve thee. %%% Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tulikuweereza. 11K1I012.005 And he said unto them, Depart yet for three days, then come again to me. And the people departed. %%% N'abagamba nti Mugende mumale ennaku ssatu nate, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda. 11K1I012.006 And king Rehoboam consulted with the old men, that stood before Solomon his father while he yet lived, and said, How do ye advise that I may answer this people? %%% Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bano? 11K1I012.007 And they spake unto him, saying, If thou wilt be a servant unto this people this day, and wilt serve them, and answer them, and speak good words to them, then they will be thy servants for ever. %%% Ne bamugamba nti Bw'onooyagala okuba omuddu eri abantu bano leero n'oyagala okubaweereza n'obaddamu n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna. 11K1I012.008 But he forsook the counsel of the old men, which they had given him, and consulted with the young men that were grown up with him, and which stood before him: %%% Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge. 11K1I012.009 And he said unto them, What counsel give ye that we may answer this people, who have spoken to me, saying, Make the yoke which thy father did put upon us lighter? %%% N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu abantu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako? 11K1I012.010 And the young men that were grown up with him spake unto him, saying, Thus shalt thou speak unto this people that spake unto thee, saying, Thy father made our yoke heavy, but make thou it lighter unto us; thus shalt thou say unto them, My little finger shall be thicker than my father's loins. %%% Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange. 11K1I012.011 And now whereas my father did lade you with a heavy yoke, I will add to your yoke: my father hath chastised you with whips, but I will chastise you with scorpions. %%% Era nno kubanga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa. 11K1I012.012 So Jeroboam and all the people came to Rehoboam the third day, as the king had appointed, saying, Come to me again the third day. %%% Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu. 11K1I012.013 And the king answered the people roughly, and forsook the old men's counsel that they gave him; %%% Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, n'aleka okuteesa kw'abakadde kwe baamuwa; 11K1I012.014 And spake to them after the counsel of the young men, saying, My father made your yoke heavy, and I will add to your yoke: my father also chastised you with whips, but I will chastise you with scorpions. %%% n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa. 11K1I012.015 Wherefore the king hearkened not unto the people; for the cause was from the LORD, that he might perform his saying, which the LORD spake by Ahijah the Shilonite unto Jeroboam the son of Nebat. %%% Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta anyweeze ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro. 11K1I012.016 So when all Israel saw that the king hearkened not unto them, the people answered the king, saying, What portion have we in David? neither have we inheritance in the son of Jesse: to your tents, O Israel: now see to thine own house, David. So Israel departed unto their tents. %%% Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nii Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri ne bagenda mu weema zaabwe. 11K1I012.017 But as for the children of Israel which dwelt in the cities of Judah, Rehoboam reigned over them. %%% Naye abaana ba Isiraeri abaabeera mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga. 11K1I012.018 Then king Rehoboam sent Adoram, who was over the tribute; and all Israel stoned him with stones, that he died. Therefore king Rehoboam made speed to get him up to his chariot, to flee to Jerusalem. %%% Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali omukulu w'omusolo; Isiraeri yenna ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye okuddukira mu Yerusaalemi. 11K1I012.019 So Israel rebelled against the house of David unto this day. %%% Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero. 11K1I012.020 And it came to pass, when all Israel heard that Jeroboam was come again, that they sent and called him unto the congregation, and made him king over all Israel: there was none that followed the house of David, but the tribe of Judah only. %%% Awo olwatuuka Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne batuma ne bamuyita okujja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: tewaali eyagoberera ennyumba ya Dawudi wabula ekika kya Yuda kyokka. 11K1I012.021 And when Rehoboam was come to Jerusalem, he assembled all the house of Judah, with the tribe of Benjamin, an hundred and fourscore thousand chosen men, which were warriors, to fight against the house of Israel, to bring the kingdom again to Rehoboam the son of Solomon. %%% Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda n'ekika kya Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani. 11K1I012.022 But the word of God came unto Shemaiah the man of God, saying, %%% Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti 11K1I012.023 Speak unto Rehoboam, the son of Solomon, king of Judah, and unto all the house of Judah and Benjamin, and to the remnant of the people, saying, %%% Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n'ennyumba yonna eya Yuda ne Benyamini n'abantu bonna abalala nti 11K1I012.024 Thus saith the LORD, Ye shall not go up, nor fight against your brethren the children of Israel: return every man to his house; for this thing is from me. They hearkened therefore to the word of the LORD, and returned to depart, according to the word of the LORD. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. 11K1I012.025 Then Jeroboam built Shechem in mount Ephraim, and dwelt therein; and went out from thence, and built Penuel. %%% Awo Yerobowaamu n'azimba Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abeera omwo; n'ava omwo n'azimba Penueri. 11K1I012.026 And Jeroboam said in his heart, Now shall the kingdom return to the house of David: %%% Yerobowaamu n'ayogerera mu mutima gwe nti Kaakano obwakabaka bunadda eri ennyumba ya Dawudi: 11K1I012.027 If this people go up to do sacrifice in the house of the LORD at Jerusalem, then shall the heart of this people turn again unto their lord, even unto Rehoboam king of Judah, and they shall kill me, and go again to Rehoboam king of Judah. %%% abantu bano bwe banaayambukanga okuweerayo ssaddaaka mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, kale omutima gw'abantu bano gulikyukira nate mukama waabwe, Lekobowaamu kabaka wa Yuda; kale balinzita nze, ne baddayo eri Lekobowaamu kabaka wa Yuda. 11K1I012.028 Whereupon the king took counsel, and made two calves of gold, and said unto them, It is too much for you to go up to Jerusalem: behold thy gods, O Israel, which brought thee up out of the land of Egypt. %%% Awo kabaka n'alyoka ateesa ebigambo, n'akola ennyana bbiri za zaabu: n'abagamba nti Kinaabalemanga okwambukanga e Yerusaalemi; laba bakatonda bo, ai Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri. 11K1I012.029 And he set the one in Bethel, and the other put he in Dan. %%% Naateeka emu mu Beseri ne ginnaayo naagiteeka mu Ddaani. 11K1I012.030 And this thing became a sin: for the people went to worship before the one, even unto Dan. %%% N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga okusinziza mu maaso g'emu nga bagenda e Ddaani. 11K1I012.031 And he made an house of high places, and made priests of the lowest of the people, which were not of the sons of Levi. %%% N'azimba ennyumba ez'ebifo ebigulumivu, n'assaawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba ku baana ba Leevi. 11K1I012.032 And Jeroboam ordained a feast in the eighth month, on the fifteenth day of the month, like unto the feast that is in Judah, and he offered upon the altar. So did he in Bethel, sacrificing unto the calves that he had made: and he placed in Bethel the priests of the high places which he had made. %%% Era Yerobowaamu n'assaawo embaga mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano okufaanana embaga eri mu Yuda, n'alinnya eri ekyoto; bw'atyo bwe yakolera mu Beseri ng'awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola: n'ateeka mu Beseri bakabona b'ebifo ebigulumivu be yassaawo. 11K1I012.033 So he offered upon the altar which he had made in Bethel the fifteenth day of the eighth month, even in the month which he had devised of his own heart; and ordained a feast unto the children of Israel: and he offered upon the altar, and burnt incense. %%% N'alinnya eri ekyoto kye yali azimbye mu Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'assaawo embaga eri abaana ba Isiraeri, n'alinnya eri ekyoto okwoteza obubaane. 11K1I013.001 And, behold, there came a man of God out of Judah by the word of the LORD unto Bethel: and Jeroboam stood by the altar to burn incense. %%% Awo, laba, ne wajja omusajja wa Katonda ng'ava mu Yuda olw'ekigambo kya Mukama n'ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali ng'ayimiridde awali ekyoto okwoteza obunaane. 11K1I013.002 And he cried against the altar in the word of the LORD, and said, O altar, altar, thus saith the LORD; Behold, a child shall be born unto the house of David, Josiah by name; and upon thee shall he offer the priests of the high places that burn incense upon thee, and men's bones shall be burnt upon thee. %%% Awo n'ayogerera waggulu ku kyoto olw'ekigambo kya Mukama n'ayogera nti Ai ekyoto, ekyoto, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, omwana alizaalirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya; era ku ggwe kw'aliweerayo bakabona b'ebifo ebigulumivu abootereza obubaane ku ggwe, era baliweerayo ku ggwe amagumba g'abantu. 11K1I013.003 And he gave a sign the same day, saying, This is the sign which the LORD hath spoken; Behold, the altar shall be rent, and the ashes that are upon it shall be poured out. %%% N'awa akabonero ku lunaku olwo ng'ayogera nti Kano ke kabonero Mukama k'ayogedde: laba, ekyoto kiryatika n'evvu erikiriko liriyiika. 11K1I013.004 And it came to pass, when king Jeroboam heard the saying of the man of God, which had cried against the altar in Bethel, that he put forth his hand from the altar, saying, Lay hold on him. And his hand, which he put forth against him, dried up, so that he could not pull it in again to him. %%% Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ekigambo eky'omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu n'agolola omukono gwe ng'ayima awali ekyoto ng'ayogera nti Mumukwate: N'omukono gwe gw'amugololedde ne gukala n'okuyinza n'atayinza kuguzza nate. 11K1I013.005 The altar also was rent, and the ashes poured out from the altar, according to the sign which the man of God had given by the word of the LORD. %%% Ekyoto nakyo ne kyatika n'evvu ne liyiika okuva ku kyoto ng'akabonero bwe kaali omusajja wa Katonda ke yawa olw'ekigambo kya Mukama. 11K1I013.006 And the king answered and said unto the man of God, Intreat now the face of the LORD thy God, and pray for me, that my hand may be restored me again. And the man of God besought the LORD, and the king's hand was restored him again, and became as it was before. %%% Awo kabaka n'addamu n'agamba omusajja wa Katonda nti Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange gumponyezebwe nate: Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne gumuwonyezebwa nate ne gufuuka nga bwe gwali olubereberye. 11K1I013.007 And the king said unto the man of God, Come home with me, and refresh thyself, and I will give thee a reward. %%% Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti Tuddeyo nange eka oweereweere, nange naakuwa empeera. 11K1I013.008 And the man of God said unto the king, If thou wilt give me half thine house, I will not go in with thee, neither will I eat bread nor drink water in this place: %%% Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti Newakubadde ng'onompa ekitundu ky'ennyumba yo, siyingire wamu naawe so siiriire mmere so sinywere mazzi mu kifo kino: 11K1I013.009 For so was it charged me by the word of the LORD, saying, Eat no bread, nor drink water, nor turn again by the same way that thou camest. %%% kubanga bwe nkuutiddwa bwe ntyo n'ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Tolya mmere so tonywa mazzi so toddayo mu kkubo ly'ofulumyemu. 11K1I013.010 So he went another way, and returned not by the way that he came to Bethel. %%% Awo n'addayo mu kkubo eddala, n'ataddayo mu kkubo ly'afulumyemu ng'ajja e Beseri. 11K1I013.011 Now there dwelt an old prophet in Bethel; and his sons came and told him all the works that the man of God had done that day in Bethel: the words which he had spoken unto the king, them they told also to their father. %%% Awo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri; omu ku batabani be n'ajja n'amubuulira ebikolwa byonna omusajja wa Katonda bye yali akoledde mu Beseri ku lunaku olwo: ebigambo by'agambye kabaka nabyo ne babibuulira kitaabwe. 11K1I013.012 And their father said unto them, What way went he? For his sons had seen what way the man of God went, which came from Judah. %%% Kitaabwe n'abagamba nti Kkubo ki mw'afulumidde? Awo batabani be nga balabye ekkubo ly'afulumiddemu omusajja wa Katonda eyava mu Yuda. 11K1I013.013 And he said unto his sons, Saddle me the ass. So they saddled him the ass: and he rode thereon, %%% N'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Awo ne bamuteekera amatandiiko ku ndogoyi: n'agyebagala. 11K1I013.014 And went after the man of God, and found him sitting under an oak: and he said unto him, Art thou the man of God that camest from Judah? And he said, I am. %%% N'agoberera omusajja wa Katonda n'amusanga ng'atudde wansi w'omwera: n'amugamba nti Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Yuda? N'ayogera nti Nze nzuuyo. 11K1I013.015 Then he said unto him, Come home with me, and eat bread. %%% Awo n'amugamba nti Tuddeyo nange eka tulye ku mmere. 11K1I013.016 And he said, I may not return with thee, nor go in with thee: neither will I eat bread nor drink water with thee in this place: %%% N'ayogera nti Siyinza kuddayo naawe newakubadde okuyingira naawe: so siiriire mmere so sinywere mazzi wamu naawe mu kifo kino: 11K1I013.017 For it was said to me by the word of the LORD, Thou shalt eat no bread nor drink water there, nor turn again to go by the way that thou camest. %%% kubanga nabuulirwa n'ekigambo kya Mukama nti Tolya ku mmere so tonywerayo mazzi so tokyuka nate okudda mu kkubo mw'ofulumidde. 11K1I013.018 He said unto him, I am a prophet also as thou art; and an angel spake unto me by the word of the LORD, saying, Bring him back with thee into thine house, that he may eat bread and drink water. But he lied unto him. %%% Awo n'amugamba nti Nange ndi nnabbi nga ggwe bw'oli; era malayika aŋŋambye n'ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi. Naye ng'amulimba. 11K1I013.019 So he went back with him, and did eat bread in his house, and drank water. %%% Awo n'addayo naye n'aliira ku mmere mu nnyumba ye n'anywa amazzi. 11K1I013.020 And it came to pass, as they sat at the table, that the word of the LORD came unto the prophet that brought him back: %%% Awo olwatuuka nga batudde ku mmeeza ekigambo kya Mukama ne kimujjira nnabbi amukomezzaawo: 11K1I013.021 And he cried unto the man of God that came from Judah, saying, Thus saith the LORD, Forasmuch as thou hast disobeyed the mouth of the LORD, and hast not kept the commandment which the LORD thy God commanded thee, %%% n'ayogerera waggulu eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga ogaanyi okuwulira akamwa ka Mukama so tokutte kiragiro Mukama Katonda wo ky'akulagidde, 11K1I013.022 But camest back, and hast eaten bread and drunk water in the place, of the which the Lord did say to thee, Eat no bread, and drink no water; thy carcase shall not come unto the sepulchre of thy fathers. %%% naye n'okomawo, era oliiridde ku mmere n'onywera amazzi mu kifo ky'akugambyeko nti Toliirayo ku mmere so tonywa mazzi: omulambo gwo tegulituuka mu ntaana ya bajjajjaabo. 11K1I013.023 And it came to pass, after he had eaten bread, and after he had drunk, that he saddled for him the ass, to wit, for the prophet whom he had brought back. %%% Awo olwatuuka bwe yamala okulya ku mmere era ng'anywedde n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ng'amuteekera nnabbi gw'akomezzaawo. 11K1I013.024 And when he was gone, a lion met him by the way, and slew him: and his carcase was cast in the way, and the ass stood by it, the lion also stood by the carcase. %%% Awo ng'agenze empologoma n'emusanga mu kkubo n'emutta: omulambo gwe ne gusuulibwa mu kkubo, endogoyi n'eyimirira kumpi nagwo; era n'empologoma n'eyimirira kumpi n'omulambo. 11K1I013.025 And, behold, men passed by, and saw the carcase cast in the way, and the lion standing by the carcase: and they came and told it in the city where the old prophet dwelt. %%% Kale, laba, abantu ne bayitawo ne balaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi n'omulambo: ne bajja ne bakibuulira mu kibuga nnabbi omukadde mwe yabeeranga. 11K1I013.026 And when the prophet that brought him back from the way heard thereof, he said, It is the man of God, who was disobedient unto the word of the LORD: therefore the LORD hath delivered him unto the lion, which hath torn him, and slain him, according to the word of the LORD, which he spake unto him. %%% Awo nnabbi amukomezzaawo mu kkubo bwe yakiwulira, n'ayogera nti Ye musajja wa Katonda ataagondedde kamwa ka Mukama: Mukama kyavudde amugabula eri empologoma emutaagudde n'emutta ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ky'amugambye. 11K1I013.027 And he spake to his sons, saying, Saddle me the ass. And they saddled him. %%% Awo n'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Ne bagiteekako amatandiiko. 11K1I013.028 And he went and found his carcase cast in the way, and the ass and the lion standing by the carcase: the lion had not eaten the carcase, nor torn the ass. %%% N'agenda n'asanga omulambo gwe nga gusuuliddwa mu kkubo n'endogoyi n'empologoma nga ziyimiridde kumpi n'omulambo: empologoma nga teridde mulambo so nga tetaagudde ndogoyi. 11K1I013.029 And the prophet took up the carcase of the man of God, and laid it upon the ass, and brought it back: and the old prophet came to the city, to mourn and to bury him. %%% Nnabbi n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda n'aguteeka ku ndogoyi n'aguzzaayo: nnabbi omukadde n'akomawo mu kibuga okukungubaga n'okumuziika. 11K1I013.030 And he laid his carcase in his own grave; and they mourned over him, saying, Alas, my brother! %%% N'ateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye; ne bamukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange! 11K1I013.031 And it came to pass, after he had buried him, that he spake to his sons, saying, When I am dead, then bury me in the sepulchre wherein the man of God is buried; lay my bones beside his bones: %%% Awo olwatuuka g'amaze okumuziika n'agamba batabani be nti Bwe ndimala okufa, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw'aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n'amagumba ge. 11K1I013.032 For the saying which he cried by the word of the LORD against the altar in Bethel, and against all the houses of the high places which are in the cities of Samaria, shall surely come to pass. %%% Kubanga ekigambo kye yayogerera waggulu olw'ekigambo kya Mukama ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku nnyumba zonna ez'ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby'e Samaliya tekirirema kutuukirira. 11K1I013.033 After this thing Jeroboam returned not from his evil way, but made again of the lowest of the people priests of the high places: whosoever would, he consecrated him, and he became one of the priests of the high places. %%% Oluvannyuma lw'ekigambo ekyo Yerobowaamu n'atakyuka okuleka ekkubo lye ebbi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu ng'abaggya ku bantu bonna: buli eyayagalanga, n'amwawulanga wabeerewo bakabona b'ebifo ebigulumivu. 11K1I013.034 And this thing became sin unto the house of Jeroboam, even to cut it off, and to destroy it from off the face of the earth. %%% N'ekigambo ekyo ne kifuuka ekibi eri ennyumba ya Yerobowaamu okugimalawo n'okugizikiriza okuva ku nsi yonna. 11K1I014.001 At that time Abijah the son of Jeroboam fell sick. %%% Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n'alwala. 11K1I014.002 And Jeroboam said to his wife, Arise, I pray thee, and disguise thyself, that thou be not known to be the wife of Jeroboam; and get thee to Shiloh: behold, there is Ahijah the prophet, which told me that I should be king over this people. %%% Yerobowaamu n'agamba mukazi we nti Golokoka, nkwegayiridde weefuule oleme okumanyibwa nga ggwe mukazi wa Yerobowaamu: ogende e Siiro; laba, Akiya nnabbi ali eyo eyanjogerako nga ndiba kabaka w'abantu bano. 11K1I014.003 And take with thee ten loaves, and cracknels, and a cruse of honey, and go to him: he shall tell thee what shall become of the child. %%% Era twala wamu naawe emigaati kkumi n'egy'empewere n'ensumbi ey'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali: ye alikubuulira omwana bw'aliba. 11K1I014.004 And Jeroboam's wife did so, and arose, and went to Shiloh, and came to the house of Ahijah. But Ahijah could not see; for his eyes were set by reason of his age. %%% Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'agolokoka n'agenda e Siiro n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Era Akiya teyayinza kulaba; kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde bwe. 11K1I014.005 And the LORD said unto Ahijah, Behold, the wife of Jeroboam cometh to ask a thing of thee for her son; for he is sick: thus and thus shalt thou say unto her: for it shall be, when she cometh in, that she shall feign herself to be another woman. %%% Awo Mukama n'agamba Akiya nti Laba, muka Yerobowaamu ajja okukubuuza ebya mutabani we; kubanga alwadde: bw'oti bw'oti bw'onoomugamba: kubanga olunaatuuka bw'anaayingira, aneefuula okuba omukazi omulala. 11K1I014.006 And it was so, when Ahijah heard the sound of her feet, as she came in at the door, that he said, Come in, thou wife of Jeroboam; why feignest thou thyself to be another? for I am sent to thee with heavy tidings. %%% Awo olwatuuka Akiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bye ng'ayingira mu luggi, n'ayogera nti Yingira, ggwe muka Yerobowaamu; lwaki okwefuula okuba omulala? kubanga ntumiddwa gy'oli n'ebigambo ebizito. 11K1I014.007 Go, tell Jeroboam, Thus saith the LORD God of Israel, Forasmuch as I exalted thee from among the people, and made thee prince over my people Israel, %%% Genda obuulire Yerobowaamu nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri, 11K1I014.008 And rent the kingdom away from the house of David, and gave it thee: and yet thou hast not been as my servant David, who kept my commandments, and who followed me with all his heart, to do that only which was right in mine eyes; %%% ne njuza mu bwakabaka nga mbuggya ku nnyumba ya Dawudi ne mbukuwa ggwe: era naye tobadde ng'omuddu wange Dawudi eyakwatanga ebiragiro byange era eyangoberera n'omutima gwe gwonna okukola ekyo kyokka ekyali mu maaso gange ekirungi; 11K1I014.009 But hast done evil above all that were before thee: for thou hast gone and made thee other gods, and molten images, to provoke me to anger, and hast cast me behind thy back: %%% naye okoze ekibi okusinga bonna abaakusooka n'ogenda ne weekolera bakatonda abalala n'ebifaananyi ebisaanuuse okunsunguwaza, n'onsuula ennyuma w'amabega go: 11K1I014.010 Therefore, behold, I will bring evil upon the house of Jeroboam, and will cut off from Jeroboam him that pisseth against the wall, and him that is shut up and left in Israel, and will take away the remnant of the house of Jeroboam, as a man taketh away dung, till it be all gone. %%% kale, laba, kyendiva ndeeta ekibi ku nnyumba ya Yerobowaamu era ndimalawo buli mwana ow'obulenzi eri Yerobowaamu, asibiddwa era n'atasibiddwa mu Isiraeri, era ndyerera ddala ennyumba ya Yerobowaamu ng'omuntu bw'ayera obusa n'okuggwaawo ne buggwaawo bwonna. 11K1I014.011 Him that dieth of Jeroboam in the city shall the dogs eat; and him that dieth in the field shall the fowls of the air eat: for the LORD hath spoken it. %%% Owa Yerobowaamu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga: kubanga Mukama akyogedde. 11K1I014.012 Arise thou therefore, get thee to thine own house: and when thy feet enter into the city, the child shall die. %%% Kale golokoka ogende mu nnyumba yo: ebigere byo bwe binaayingira mu kibuga, omwana anaafa. 11K1I014.013 And all Israel shall mourn for him, and bury him: for he only of Jeroboam shall come to the grave, because in him there is found some good thing toward the LORD God of Israel in the house of Jeroboam. %%% Kale Isiraeri yenna balimukungubagira ne bamuziika; kubanga ku ba Yerobowaamu oyo yekka ye alituuka mu ntaana: kubanga mu ye mulabise ekigambo ekirungi eri Mukama Katonda wa Isiraeri mu nnyumba ya Yerobowaamu. 11K1I014.014 Moreover the LORD shall raise him up a king over Israel, who shall cut off the house of Jeroboam that day: but what? even now. %%% Era nate Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isiraeri alimalawo ennyumba ya Yerobowaamu ku lunaku olwo: naye njogedde ntya? kaakano kati. 11K1I014.015 For the LORD shall smite Israel, as a reed is shaken in the water, and he shall root up Israel out of this good land, which he gave to their fathers, and shall scatter them beyond the river, because they have made their groves, provoking the LORD to anger. %%% Kubanga Mukama alikuba Isiraeri ng'ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi; era alisimbula Isiraeri okubaggya mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, era alibasaasaanyiza emitala w'Omugga; kubanga bakoze Baaseri baabwe, nga basunguwaza Mukama. 11K1I014.016 And he shall give Israel up because of the sins of Jeroboam, who did sin, and who made Israel to sin. %%% Era aliwaayo Isiraeri olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri. 11K1I014.017 And Jeroboam's wife arose, and departed, and came to Tirzah: and when she came to the threshold of the door, the child died; %%% Awo muka Yerobowaamu n'agolokoka n'agenda n'ajja e Tiruza: awo bwe yali ng'ajja ku mulyango gw'ennyumba, omwana n'afa. 11K1I014.018 And they buried him; and all Israel mourned for him, according to the word of the LORD, which he spake by the hand of his servant Ahijah the prophet. %%% Isiraeri yenna ne bamuziika ne bamukungubagira; ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya nnabbi. 11K1I014.019 And the rest of the acts of Jeroboam, how he warred, and how he reigned, behold, they are written in the book of the chronicles of the kings of Israel. %%% N'ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu bwe yalwana era bwe yafuga, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. 11K1I014.020 And the days which Jeroboam reigned were two and twenty years: and he slept with his fathers, and Nadab his son reigned in his stead. %%% N'ennaku Yerobowaamu ze yafugira zaali emyaka abiri mu ebiri: ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Nadabu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I014.021 And Rehoboam the son of Solomon reigned in Judah. Rehoboam was forty and one years old when he began to reign, and he reigned seventeen years in Jerusalem, the city which the LORD did choose out of all the tribes of Israel, to put his name there. And his mother's name was Naamah an Ammonitess. %%% Awo Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n'afuga mu Yuda. Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka ana mu gumu bwe yalya obwakabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n'erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni. 11K1I014.022 And Judah did evil in the sight of the LORD, and they provoked him to jealousy with their sins which they had committed, above all that their fathers had done. %%% Yuda n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; ne bamukwasa obuggya olw'ebibi byabwe bye baakola okusinga byonna bajjajjaabwe bye baakola. 11K1I014.023 For they also built them high places, and images, and groves, on every high hill, and under every green tree. %%% Kubanga beezimbira nabo ebifo ebigulumivu nabo n'empagi ne Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi; 11K1I014.024 And there were also sodomites in the land: and they did according to all the abominations of the nations which the LORD cast out before the children of Israel. %%% era waaliwo n'abaalyanga ebisiyaga mu nsi: ne bakola ng'eby'emizizo byonna bwe byali eby'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 11K1I014.025 And it came to pass in the fifth year of king Rehoboam, that Shishak king of Egypt came up against Jerusalem: %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'ayambuka okulumba Yerusaalemi: 11K1I014.026 And he took away the treasures of the house of the LORD, and the treasures of the king's house; he even took away all: and he took away all the shields of gold which Solomon had made. %%% n'aggyayo eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka; yatwalira ddala byonna: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 11K1I014.027 And king Rehoboam made in their stead brasen shields, and committed them unto the hands of the chief of the guard, which kept the door of the king's house. %%% Awo kabaka Lekobowaamu n'akola engabo za bikomo okudda mu kifo kyazo, n'aziteresa mu mikono gy'abakulu b'ambabowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka. 11K1I014.028 And it was so, when the king went into the house of the LORD, that the guard bare them, and brought them back into the guard chamber. %%% Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bazambalanga ne bazizza mu nju ey'abambowa. 11K1I014.029 Now the rest of the acts of Rehoboam, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Lekobowaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 11K1I014.030 And there was war between Rehoboam and Jeroboam all their days. %%% Era waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna. 11K1I014.031 And Rehoboam slept with his fathers, and was buried with his fathers in the city of David. And his mother's name was Naamah an Ammonitess. And Abijam his son reigned in his stead. %%% Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajiajjaabe mu kibuga kya Dawudi: ne nnyina erinnya lye lyali Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I015.001 Now in the eighteenth year of king Jeroboam the son of Nebat reigned Abijam over Judah. %%% Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yerobowaamu kabaka mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atanula okufuga Yuda. 11K1I015.002 Three years reigned he in Jerusalem. And his mother's name was Maachah, the daughter of Abishalom. %%% Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu. 11K1I015.003 And he walked in all the sins of his father, which he had done before him: and his heart was not perfect with the LORD his God, as the heart of David his father. %%% N'atambulira mu bibi byonna ebya kitaawe bye yakola okumusooka: n'omutima gwe tegwatuukirira eri Mukama Katonda we ng'omutima gwa Dawudi kitaawe. 11K1I015.004 Nevertheless for David's sake did the LORD his God give him a lamp in Jerusalem, to set up his son after him, and to establish Jerusalem: %%% Era naye ku lwa Dawudi Mukama Katonda we n'amuwa ettabaaza mu Yerusaalemi okuyimusa mutabani we oluvannyuma lwe n'okunyweza Yerusaalemi: 11K1I015.005 Because David did that which was right in the eyes of the LORD, and turned not aside from any thing that he commanded him all the days of his life, save only in the matter of Uriah the Hittite. %%% kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe wabula mu kigambo kya Uliya Omukiiti. 11K1I015.006 And there was war between Rehoboam and Jeroboam all the days of his life. %%% Awo waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna ez'obulamu bwe. 11K1I015.007 Now the rest of the acts of Abijam, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? And there was war between Abijam and Jeroboam. %%% N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu. 11K1I015.008 And Abijam slept with his fathers; and they buried him in the city of David: and Asa his son reigned in his stead. %%% Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I015.009 And in the twentieth year of Jeroboam king of Israel reigned Asa over Judah. %%% Awo mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Asa n'atanula okufuga Yuda. 11K1I015.010 And forty and one years reigned he in Jerusalem. And his mother's name was Maachah, the daughter of Abishalom. %%% N'afugira emyaka ana mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu. 11K1I015.011 And Asa did that which was right in the eyes of the LORD, as did David his father. %%% Asa n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe bwe yakola. 11K1I015.012 And he took away the sodomites out of the land, and removed all the idols that his fathers had made. %%% N'agoba abaalyanga ebisiyaga mu nsi, n'aggyawo ebifaananyi byonna bajjajjaabe bye baakola. 11K1I015.013 And also Maachah his mother, even her he removed from being queen, because she had made an idol in a grove; and Asa destroyed her idol, and burnt it by the brook Kidron. %%% Era ne Maaka nnyina n'amugoba mu bwa nnamasole kubanga yali akoze ekifaananyi eky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akyokera ku kagga Kiduloni. 11K1I015.014 But the high places were not removed: nevertheless Asa's heart was perfect with the LORD all his days. %%% Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna. 11K1I015.015 And he brought in the things which his father had dedicated, and the things which himself had dedicated, into the house of the LORD, silver, and gold, and vessels. %%% N'ayingiza mu nnyumba ya Mukama ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu. 11K1I015.016 And there was war between Asa and Baasha king of Israel all their days. %%% Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna. 11K1I015.017 And Baasha king of Israel went up against Judah, and built Ramah, that he might not suffer any to go out or come in to Asa king of Judah. %%% Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama, obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda. 11K1I015.018 Then Asa took all the silver and the gold that were left in the treasures of the house of the LORD, and the treasures of the king's house, and delivered them into the hand of his servants: and king Asa sent them to Benhadad, the son of Tabrimon, the son of Hezion, king of Syria, that dwelt at Damascus, saying, %%% Awo Asa n'addira effeeza yonna n'ezaabu eyali esigadde mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa mu mikono gy'abaddu be: kabaka Asa n'abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti 11K1I015.019 There is a league between me and thee, and between my father and thy father: behold, I have sent unto thee a present of silver and gold; come and break thy league with Baasha king of Israel, that he may depart from me. %%% Waliwo endagaano eri nze naawe, eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ekirabo kya ffeeza n'ezaabu; genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko. 11K1I015.020 So Benhadad hearkened unto king Asa, and sent the captains of the hosts which he had against the cities of Israel, and smote Ijon, and Dan, and Abelbethmaachah, and all Cinneroth, with all the land of Naphtali. %%% Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'akuba Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ensi yonna eya Nafutaali. 11K1I015.021 And it came to pass, when Baasha heard thereof, that he left off building of Ramah, and dwelt in Tirzah. %%% Awo olwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'abeeranga e Tiruza. 11K1I015.022 Then king Asa made a proclamation throughout all Judah; none was exempted: and they took away the stones of Ramah, and the timber thereof, wherewith Baasha had builded; and king Asa built with them Geba of Benjamin, and Mizpah. %%% Awo kabaka Asa n'alangira Yuda yenna; tewali eyaggibwako; ne baggyawo amayinja ag'e Laama, n'emiti gyakyo, Baasa bye yazimbya; kabaka Asa n'abizimbisa Geba ekya Benyamini ne Mizupa. 11K1I015.023 The rest of all the acts of Asa, and all his might, and all that he did, and the cities which he built, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? Nevertheless in the time of his old age he was diseased in his feet. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n’alwala ebigere. 11K1I015.024 And Asa slept with his fathers, and was buried with his fathers in the city of David his father: and Jehoshaphat his son reigned in his stead. %%% Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I015.025 And Nadab the son of Jeroboam began to reign over Israel in the second year of Asa king of Judah, and reigned over Israel two years. %%% Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atanula okufuga Isiraeri mu mwaka ogw'okubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri. 11K1I015.026 And he did evil in the sight of the LORD, and walked in the way of his father, and in his sin wherewith he made Israel to sin. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kyonoono kye kye yayonoonyesa Isiraeri. 11K1I015.027 And Baasha the son of Ahijah, of the house of Issachar, conspired against him; and Baasha smote him at Gibbethon, which belonged to the Philistines; for Nadab and all Israel laid siege to Gibbethon. %%% Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'amwekobaana; Baasa n'amukubira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti; kubanga Nadabu ne Isiraeri yenna baali bazingizizza Gibbesoni. 11K1I015.028 Even in the third year of Asa king of Judah did Baasha slay him, and reigned in his stead. %%% Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mwe yamuttira, n'afuga mu kifo kye. 11K1I015.029 And it came to pass, when he reigned, that he smote all the house of Jeroboam; he left not to Jeroboam any that breathed, until he had destroyed him, according unto the saying of the LORD, which he spake by his servant Ahijah the Shilonite: %%% Awo olwatuuka amangu ago bwe yalya obwakabaka, n'atta ennyumba yonna eya Yerobowaamu; teyamulekera Yerobowaamu n'omu eyassa omukka okutuusa lwe yamuzikiriza; ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya Omusiiro: 11K1I015.030 Because of the sins of Jeroboam which he sinned, and which he made Israel sin, by his provocation wherewith he provoked the LORD God of Israel to anger. %%% olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri; olw'okusunguwaza kwe kwe yasunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri. 11K1I015.031 Now the rest of the acts of Nadab, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byoana ebya Nadabu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 11K1I015.032 And there was war between Asa and Baasha king of Israel all their days. %%% Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna. 11K1I015.033 In the third year of Asa king of Judah began Baasha the son of Ahijah to reign over all Israel in Tirzah, twenty and four years. %%% Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 11K1I015.034 And he did evil in the sight of the LORD, and walked in the way of Jeroboam, and in his sin wherewith he made Israel to sin. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Isiraeri. 11K1I016.001 Then the word of the LORD came to Jehu the son of Hanani against Baasha, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira Yeeku mutabani wa Kanani ku Baasa nga kyogera 11K1I016.002 Forasmuch as I exalted thee out of the dust, and made thee prince over my people Israel; and thou hast walked in the way of Jeroboam, and hast made my people Israel to sin, to provoke me to anger with their sins; %%% nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n’oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe; 11K1I016.003 Behold, I will take away the posterity of Baasha, and the posterity of his house; and will make thy house like the house of Jeroboam the son of Nebat. %%% laba, ndiggirawo ddala Baasa n'ennyumba ye: era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. 11K1I016.004 Him that dieth of Baasha in the city shall the dogs eat; and him that dieth of his in the fields shall the fowls of the air eat. %%% Owa Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyoni ez'omu bbanga zinaamulyanga. 11K1I016.005 Now the rest of the acts of Baasha, and what he did, and his might, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Baasa ne bye yakola n'amaanyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 11K1I016.006 So Baasha slept with his fathers, and was buried in Tirzah: and Elah his son reigned in his stead. %%% Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa e Tiruza: Era mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I016.007 And also by the hand of the prophet Jehu the son of Hanani came the word of the LORD against Baasha, and against his house, even for all the evil that he did in the sight of the LORD, in provoking him to anger with the work of his hands, in being like the house of Jeroboam; and because he killed him. %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja ku Baasa mu mukono gwa nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'omulimu gw'emikono gye ng'afaanana ennyumba ya Yerobowaamu era kubanga yamukuba. 11K1I016.008 In the twenty and sixth year of Asa king of Judah began Elah the son of Baasha to reign over Israel in Tirzah, two years. %%% Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu mukaaga ogwa Asa kabaka wa Yuda Era mutabani wa Baasa n'atanula okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri. 11K1I016.009 And his servant Zimri, captain of half his chariots, conspired against him, as he was in Tirzah, drinking himself drunk in the house of Arza steward of his house in Tirzah. %%% Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amwekobaana: era yali ali e Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali saabakaaki mu Tiruza: 11K1I016.010 And Zimri went in and smote him, and killed him, in the twenty and seventh year of Asa king of Judah, and reigned in his stead. %%% Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afuga mu kifo kye. 11K1I016.011 And it came to pass, when he began to reign, as soon as he sat on his throne, that he slew all the house of Baasha: he left him not one that pisseth against a wall, neither of his kinsfolks, nor of his friends. %%% Awo olwatuuka bwe yatanula okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, awo n'atta ennyumba yonna eya Baasa: teyamusigaliza mwana wa bulenzi, newakubadde ku nda ze newakubadde ku mikwano gye. 11K1I016.012 Thus did Zimri destroy all the house of Baasha, according to the word of the LORD, which he spake against Baasha by Jehu the prophet, %%% Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa mu Yeeku nnabbi, 11K1I016.013 For all the sins of Baasha, and the sins of Elah his son, by which they sinned, and by which they made Israel to sin, in provoking the LORD God of Israel to anger with their vanities. %%% olw'ebibi byonna ebya Baasa, n'ebibi bya Era mutabani we bye bayonoona era bye bayonoonyesa Isiraeri, okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n'ebirerya byabwe. 11K1I016.014 Now the rest of the acts of Elah, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Era ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 11K1I016.015 In the twenty and seventh year of Asa king of Judah did Zimri reign seven days in Tirzah. And the people were encamped against Gibbethon, which belonged to the Philistines. %%% Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Era abantu baali basiisidde okulwana ne Gibbesoni eky'Abafirisuuti. 11K1I016.016 And the people that were encamped heard say, Zimri hath conspired, and hath also slain the king: wherefore all Israel made Omri, the captain of the host, king over Israel that day in the camp. %%% Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nga boogera nti Zimula yeekobaanye era asse kabaka: Isiraeri yenna kyebaava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri ku lunaku olwo mu lusiisira. 11K1I016.017 And Omri went up from Gibbethon, and all Israel with him, and they besieged Tirzah. %%% Omuli n'ayambuka ng'ava e Gibbesoni ne Isiraeri yenna wamu naye, ne bazingiza Tiruza. 11K1I016.018 And it came to pass, when Zimri saw that the city was taken, that he went into the palace of the king's house, and burnt the king's house over him with fire, and died, %%% Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, ne yeeyokerera n'omuliro mu nnyumba ya kabaka n'afa, 11K1I016.019 For his sins which he sinned in doing evil in the sight of the LORD, in walking in the way of Jeroboam, and in his sin which he did, to make Israel to sin. %%% olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri. 11K1I016.020 Now the rest of the acts of Zimri, and his treason that he wrought, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 11K1I016.021 Then were the people of Israel divided into two parts: half of the people followed Tibni the son of Ginath, to make him king; and half followed Omri. %%% Awo abantu ba Isiraeri ne baawulibwamu ebibiina bibiri: ekitundu ky'abantu nga bagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi okumufuula kabaka; n'ekitundu nga bagoberera Omuli. 11K1I016.022 But the people that followed Omri prevailed against the people that followed Tibni the son of Ginath: so Tibni died, and Omri reigned. %%% Naye abantu abaagoberera Omuli ne basinga abantu abaagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka. 11K1I016.023 In the thirty and first year of Asa king of Judah began Omri to reign over Israel, twelve years: six years reigned he in Tirzah. %%% Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu gumu ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atanula okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri: yafugira emyaka mukaaga e Tiruza. 11K1I016.024 And he bought the hill Samaria of Shemer for two talents of silver, and built on the hill, and called the name of the city which he built, after the name of Shemer, owner of the hill, Samaria. %%% N'agula olusozi Samaliya eri Semeri ne talanta bbiri za ffeeza; n'azimba ku lusozi n'atuuma ekibuga kye yazimba erinnya ng'erinnya bwe lyali erya Semeri nnyini lusozi Samaliya. 11K1I016.025 But Omri wrought evil in the eyes of the LORD, and did worse than all that were before him. %%% Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agira ekyejo okusinga bonna abaamusooka. 11K1I016.026 For he walked in all the way of Jeroboam the son of Nebat, and in his sin wherewith he made Israel to sin, to provoke the LORD God of Israel to anger with their vanities. %%% Kubanga yatambulira mu kkubo lyonna erya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ne mu bibi bye bye yayonoonyesa Isiraeri okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n’ebirerya byabwe. 11K1I016.027 Now the rest of the acts of Omri which he did, and his might that he shewed, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Omuli bye yakola n'amaanyi ge ge yalaga tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 11K1I016.028 So Omri slept with his fathers, and was buried in Samaria: and Ahab his son reigned in his stead. %%% Awo Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya: Akabu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I016.029 And in the thirty and eighth year of Asa king of Judah began Ahab the son of Omri to reign over Israel: and Ahab the son of Omri reigned over Israel in Samaria twenty and two years. %%% Awo mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atanula okufuga Isiraeri: Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 11K1I016.030 And Ahab the son of Omri did evil in the sight of the LORD above all that were before him. %%% Era Akabu mutabani wa Imuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi okusinga bonna abaamusooka. 11K1I016.031 And it came to pass, as if it had been a light thing for him to walk in the sins of Jeroboam the son of Nebat, that he took to wife Jezebel the daughter of Ethbaal king of the Zidonians, and went and served Baal, and worshipped him. %%% Awo olwatuuka, ng'akiyita kigambo kitono okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'awasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, n'agenda n'aweereza Baali n'amusinza. 11K1I016.032 And he reared up an altar for Baal in the house of Baal, which he had built in Samaria. %%% Era yasimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 11K1I016.033 And Ahab made a grove; and Ahab did more to provoke the LORD God of Israel to anger than all the kings of Israel that were before him. %%% Akabu n'akola Baaseri; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka. 11K1I016.034 In his days did Hiel the Bethelite build Jericho: he laid the foundation thereof in Abiram his firstborn, and set up the gates thereof in his youngest son Segub, according to the word of the LORD, which he spake by Joshua the son of Nun. %%% Ku mirembe gye Kyeri Omubeseri n'azimba Yeriko: yassaawo emisingi gyakyo n'okufiirwa Abiraamu omubereberye we, n'asimba enzigi zaakyo n'okufiirwa mutabani we omuto Segubi, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gwa Yoswa mutabani wa Nuni. 11K1I017.001 And Elijah the Tishbite, who was of the inhabitants of Gilead, said unto Ahab, As the LORD God of Israel liveth, before whom I stand, there shall not be dew nor rain these years, but according to my word. %%% Awo Eriya Omutisubi, eyali ku abo abaatuula e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, tewaabenga musulo newakubadde enkuba mu myaka gino, wabula ng'ekigambo kyange bwe kiri. 11K1I017.002 And the word of the LORD came unto him, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti 11K1I017.003 Get thee hence, and turn thee eastward, and hide thyself by the brook Cherith, that is before Jordan. %%% Va wano okyuke ogende ebuvanjuba weekweke awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani. 11K1I017.004 And it shall be, that thou shalt drink of the brook; and I have commanded the ravens to feed thee there. %%% Awo olulituuka onoonyweranga mu kagga; era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo. 11K1I017.005 So he went and did according unto the word of the LORD: for he went and dwelt by the brook Cherith, that is before Jordan. %%% Awo n'agenda n'akola ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali: kubanga yagenda n'abeera awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani. 11K1I017.006 And the ravens brought him bread and flesh in the morning, and bread and flesh in the evening; and he drank of the brook. %%% Awo bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n'ennyama enkya, n'emmere n'ennyama akawungeezi; n'anywanga mu kagga. 11K1I017.007 And it came to pass after a while, that the brook dried up, because there had been no rain in the land. %%% Awo olwatuuka ddaaki akagga ne kakala olw'obutaba nkuba mu nsi. 11K1I017.008 And the word of the LORD came unto him, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti 11K1I017.009 Arise, get thee to Zarephath, which belongeth to Zidon, and dwell there: behold, I have commanded a widow woman there to sustain thee. %%% Golokoka ogende e Zalefaasi ekya Sidoni, obeere eyo: laba, ndagidde omukazi nnamwandu ali eyo okukuliisanga. 11K1I017.010 So he arose and went to Zarephath. And when he came to the gate of the city, behold, the widow woman was there gathering of sticks: and he called to her, and said, Fetch me, I pray thee, a little water in a vessel, that I may drink. %%% Awo n'agolokoka n'agenda e Zalefaasi: awo bwe yatuuka ku wankaaki w'ekibuga, laba, omukazi nnamwandu ng'ali eyo ng'alonda enku: n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, nkimira otuzzi mu kibya, nnywe. 11K1I017.011 And as she was going to fetch it, he called to her, and said, Bring me, I pray thee, a morsel of bread in thine hand. %%% Awo ng'agenda okugakima, n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, ndeetera akamere mu mukono gwo. 11K1I017.012 And she said, As the LORD thy God liveth, I have not a cake, but an handful of meal in a barrel, and a little oil in a cruse: and, behold, I am gathering two sticks, that I may go in and dress it for me and my son, that we may eat it, and die. %%% N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba, nsennya enku bbiri nnyingire neefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe. 11K1I017.013 And Elijah said unto her, Fear not; go and do as thou hast said: but make me thereof a little cake first, and bring it unto me, and after make for thee and for thy son. %%% Awo Eriya n'amugamba nti Totya; genda okole nga bw'oyogedde: naye sooka obunfumbiremu akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n'omwana wo. 11K1I017.014 For thus saith the LORD God of Israel, The barrel of meal shall not waste, neither shall the cruse of oil fail, until the day that the LORD sendeth rain upon the earth. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi. 11K1I017.015 And she went and did according to the saying of Elijah: and she, and he, and her house, did eat many days. %%% Awo n'agenda n'akola nga Eriya bw'ayogedde: omukazi naye n'ennyumba ye ne baliira ennaku nnyingi. 11K1I017.016 And the barrel of meal wasted not, neither did the cruse of oil fail, according to the word of the LORD, which he spake by Elijah. %%% Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya. 11K1I017.017 And it came to pass after these things, that the son of the woman, the mistress of the house, fell sick; and his sickness was so sore, that there was no breath left in him. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo omwana w'omukazi oyo nnyini nnyumba n'alwala; n'endwadde ye n'enyiikira bw'eti n'atabaamu nate na mukka. 11K1I017.018 And she said unto Elijah, What have I to do with thee, O thou man of God? art thou come unto me to call my sin to remembrance, and to slay my son? %%% Awo n'agamba Eriya nti Nfaayo ki eri ggwe, ggwe omusajja wa Katonda? wajja gye ndi okunjijukiza ekibi kyange n'okutta omwana wange! 11K1I017.019 And he said unto her, Give me thy son. And he took him out of her bosom, and carried him up into a loft, where he abode, and laid him upon his own bed. %%% N'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye. 11K1I017.020 And he cried unto the LORD, and said, O LORD my God, hast thou also brought evil upon the widow with whom I sojourn, by slaying her son? %%% N'akaabira Mukama, n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we? 11K1I017.021 And he stretched himself upon the child three times, and cried unto the LORD, and said, O LORD my God, I pray thee, let this child's soul come into him again. %%% Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, z'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate. 11K1I017.022 And the LORD heard the voice of Elijah; and the soul of the child came into him again, and he revived. %%% Mukama n'awulira eddoboozi lya Eriya; obulamu bw'omwana ne bumuddamu nate, n'alama. 11K1I017.023 And Elijah took the child, and brought him down out of the chamber into the house, and delivered him unto his mother: and Elijah said, See, thy son liveth. %%% Awo Eriya n'addira omwana n'amuserengesa ng'amuggya mu kisenge n'amuleeta mu nnyumba n'amuwa nnyina: Eriya n'ayogera nti Laba, omwana wo mulamu. 11K1I017.024 And the woman said to Elijah, Now by this I know that thou art a man of God, and that the word of the LORD in thy mouth is truth. %%% Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano mmanyi ng'oli musajja wa Katonda, era ng'ekigambo kya Mukama mu kamwa ko ge mazima. 11K1I018.001 And it came to pass after many days, that the word of the LORD came to Elijah in the third year, saying, Go, shew thyself unto Ahab; and I will send rain upon the earth. %%% Awo olwatuuka ennaku nnyingi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogw'okusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi. 11K1I018.002 And Elijah went to shew himself unto Ahab. And there was a sore famine in Samaria. %%% Awo Eriya n'agenda okweraga eri Akabu. Era enjala ng'enyiikidde nnyo mu Samaliya. 11K1I018.003 And Ahab called Obadiah, which was the governor of his house. (Now Obadiah feared the LORD greatly: %%% Awo Akabu n'ayita Obadiya eyali saabakaaki. (Era Obadiya yatya nnyo Mukama: 11K1I018.004 For it was so, when Jezebel cut off the prophets of the LORD, that Obadiah took an hundred prophets, and hid them by fifty in a cave, and fed them with bread and water.) %%% kubanga olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya n'addira bannabbi kikumi n'abakweka mu mpuku ataano ataano, n'abaliisanga n'emigaati n'amazzi.) 11K1I018.005 And Ahab said unto Obadiah, Go into the land, unto all fountains of water, and unto all brooks: peradventure we may find grass to save the horses and mules alive, that we lose not all the beasts. %%% Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda obune ensi eri enzizi zonna ez'amazzi n'eri obugga bwonna: mpozzi tuliraba omuddo netuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna. 11K1I018.006 So they divided the land between them to pass throughout it: Ahab went one way by himself, and Obadiah went another way by himself. %%% Awo ne bagabana ensi bombi okugibuna: Akabu ng'akwata ekkubo lye ye, ne Obadiya ng'akwata ekkubo lye ye. 11K1I018.007 And as Obadiah was in the way, behold, Elijah met him: and he knew him, and fell on his face, and said, Art thou that my lord Elijah? %%% Awo Obadiya ng'ali mu kkubo, laba, Eriya n'amusanga: n'amumanya n'avuunama amaaso ge n'ayogera nti Ggwe wuuno, mukama wange Eriya? 11K1I018.008 And he answered him, I am: go, tell thy lord, Behold, Elijah is here. %%% N'amuddamu nti Nze nzuuno: genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano. 11K1I018.009 And he said, What have I sinned, that thou wouldest deliver thy servant into the hand of Ahab, to slay me? %%% N'ayogera nti Nnyonoonye mu ki, n'oyagala okuwaayo omuddu wo mu mukono gwa Akabu okunzita? 11K1I018.010 As the LORD thy God liveth, there is no nation or kingdom, whither my lord hath not sent to seek thee: and when they said, He is not there; he took an oath of the kingdom and nation, that they found thee not. %%% Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, tewali ggwanga newakubadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya: awo bwe baayogeranga nti Tali wano, n'alayiza obwakabaka obwo n'eggwanga nga tebakulabye. 11K1I018.011 And now thou sayest, Go, tell thy lord, Behold, Elijah is here. %%% Kale kaakano oyogedde nti Genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano. 11K1I018.012 And it shall come to pass, as soon as I am gone from thee, that the Spirit of the LORD shall carry thee whither I know not; and so when I come and tell Ahab, and he cannot find thee, he shall slay me: but I thy servant fear the LORD from my youth. %%% Kale olulituuka nga kyenjije nkuveeko kale omwoyo gwa Mukama gunaakutwala gye simanyi; kale bwe ndituuka ne mbuulira Akabu n'atayinza kukulaba, alinzita: naye nze omuddu wo ntya Mukama okuva mu buto bwange. 11K1I018.013 Was it not told my lord what I did when Jezebel slew the prophets of the LORD, how I hid an hundred men of the LORD's prophets by fifty in a cave, and fed them with bread and water? %%% Tekibuulirwanga mukama wange kye nnakola, Yezeberi bwe yatta banaabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku ataano ataano, ne mbaliisa emigaati n’amazzi? 11K1I018.014 And now thou sayest, Go, tell thy lord, Behold, Elijah is here: and he shall slay me. %%% Kale kaakano oyogedde nti Genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya aliwano: kale ananzita. 11K1I018.015 And Elijah said, As the LORD of hosts liveth, before whom I stand, I will surely shew myself unto him to day. %%% Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gwe nnyimiririra mu maaso ge, siireme kweraga eri ye leero. 11K1I018.016 So Obadiah went to meet Ahab, and told him: and Ahab went to meet Elijah. %%% Awo Obadiya n'agenda okusisinkana Akabu n'amubuulira: Akabu n'agenda okusisinkana Eriya. 11K1I018.017 And it came to pass, when Ahab saw Elijah, that Ahab said unto him, Art thou he that troubleth Israel? %%% Awo olwatuuka Akabu bwe yalaba Eriya Akabu n'amugamba nti Ggwe wuuno, ggwe ateganya Isiraeri? 11K1I018.018 And he answered, I have not troubled Israel; but thou, and thy father's house, in that ye have forsaken the commandments of the LORD, and thou hast followed Baalim. %%% N'addamu nti Nze sinnateganya Isiraeri; naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, n'ogoberera Babaali. 11K1I018.019 Now therefore send, and gather to me all Israel unto mount Carmel, and the prophets of Baal four hundred and fifty, and the prophets of the groves four hundred, which eat at Jezebel's table. %%% Kale nno tuma okuŋŋaanyize gye ndi Isiraeri yenna ku lusozi Kalumeeri ne bannabbi ba Baali ebikumi bina mu ataano ne bannabbi ba Baaseri ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezeberi. 11K1I018.020 So Ahab sent unto all the children of Israel, and gathered the prophets together unto mount Carmel. %%% Awo Akabu n'atumira abaana ba Isiraeri bonna n'akuŋŋaanyiza bannabbi ku lusozi Kalumeeri. 11K1I018.021 And Elijah came unto all the people, and said, How long halt ye between two opinions? if the LORD be God, follow him: but if Baal, then follow him. And the people answered him not a word. %%% Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n’ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo. 11K1I018.022 Then said Elijah unto the people, I, even I only, remain a prophet of the LORD; but Baal's prophets are four hundred and fifty men. %%% Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi ba Baali abasajja ebikumi bina mu ataano. 11K1I018.023 Let them therefore give us two bullocks; and let them choose one bullock for themselves, and cut it in pieces, and lay it on wood, and put no fire under: and I will dress the other bullock, and lay it on wood, and put no fire under: %%% Kale batuwe ente bbiri; beeroboze eate emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi: nange naalongoosa ente ey'okubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi. 11K1I018.024 And call ye on the name of your gods, and I will call on the name of the LORD: and the God that answereth by fire, let him be God. And all the people answered and said, It is well spoken. %%% Kale mmwe mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, nange naakaabirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi. 11K1I018.025 And Elijah said unto the prophets of Baal, Choose you one bullock for yourselves, and dress it first; for ye are many; and call on the name of your gods, but put no fire under. %%% Awo Eriya n'agamba bannabbi ba Baali nti Mweroboze ente emu okuba eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi; mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi. 11K1I018.026 And they took the bullock which was given them, and they dressed it, and called on the name of Baal from morning even until noon, saying, O Baal, hear us. But there was no voice, nor any that answered. And they leaped upon the altar which was made. %%% Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne bakaabirira erinnya lya Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ai Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuuka awali ekyoto ekyakolebwa. 11K1I018.027 And it came to pass at noon, that Elijah mocked them, and said, Cry aloud: for he is a god; either he is talking, or he is pursuing, or he is in a journey, or peradventure he sleepeth, and must be awaked. %%% Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira n'ayogera nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba akyamye oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase, kigwanidde okumuzuukusa. 11K1I018.028 And they cried aloud, and cut themselves after their manner with knives and lancets, till the blood gushed out upon them. %%% Ne boogerera waggulu ne beesala n'obwambe n'amafumu ng'engeri yaabwe bwe yali okutuusa omusaayi lwe gwakulukutira ku bo. 11K1I018.029 And it came to pass, when midday was past, and they prophesied until the time of the offering of the evening sacrifice, that there was neither voice, nor any to answer, nor any that regarded. %%% Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balagula okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo. 11K1I018.030 And Elijah said unto all the people, Come near unto me. And all the people came near unto him. And he repaired the altar of the LORD that was broken down. %%% Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa. 11K1I018.031 And Elijah took twelve stones, according to the number of the tribes of the sons of Jacob, unto whom the word of the LORD came, saying, Israel shall be thy name: %%% Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo. 11K1I018.032 And with the stones he built an altar in the name of the LORD: and he made a trench about the altar, as great as would contain two measures of seed. %%% N'azimba amayinja okuba ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, obunene bwa lwo olugyamu ebigero bibiri eby'ensigo. 11K1I018.033 And he put the wood in order, and cut the bullock in pieces, and laid him on the wood, and said, Fill four barrels with water, and pour it on the burnt sacrifice, and on the wood. %%% N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'ayogera nti mujjuze amapipa ana amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku. 11K1I018.034 And he said, Do it the second time. And they did it the second time. And he said, Do it the third time. And they did it the third time. %%% Awo n'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogw'okubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogw'okusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okusatu. 11K1I018.035 And the water ran round about the altar; and he filled the trench also with water. %%% Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto; n'ajjuza n'olusalosalo amazzi. 11K1I018.036 And it came to pass at the time of the offering of the evening sacrifice, that Elijah the prophet came near, and said, LORD God of Abraham, Isaac, and of Israel, let it be known this day that thou art God in Israel, and that I am thy servant, and that I have done all these things at thy word. %%% Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo. 11K1I018.037 Hear me, O LORD, hear me, that this people may know that thou art the LORD God, and that thou hast turned their heart back again. %%% Mpulira, ai Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe, Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okuddayo. 11K1I018.038 Then the fire of the LORD fell, and consumed the burnt sacrifice, and the wood, and the stones, and the dust, and licked up the water that was in the trench. %%% Awo omuliro gwa Mukama ne gugwa ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'enku n'amayinja n'enfuufu, ne gukombera ddala amazzi agaali mu lusalosalo. 11K1I018.039 And when all the people saw it, they fell on their faces: and they said, The LORD, he is the God; the LORD, he is the God. %%% Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama amaaso gaabwe: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda. 11K1I018.040 And Elijah said unto them, Take the prophets of Baal; let not one of them escape. And they took them: and Elijah brought them down to the brook Kishon, and slew them there. %%% Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi ba Baali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo. 11K1I018.041 And Elijah said unto Ahab, Get thee up, eat and drink; for there is a sound of abundance of rain. %%% Awo Eriya n'agamba Akabu nti Golokoka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw'enkuba nnyingi. 11K1I018.042 So Ahab went up to eat and to drink. And Elijah went up to the top of Carmel; and he cast himself down upon the earth, and put his face between his knees, %%% Awo Akabu n’agolokoka okulya n'okunywa. Eriya n'alinnya ku ntikko y'e Kalumeeri; n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge. 11K1I018.043 And said to his servant, Go up now, look toward the sea. And he went up, and looked, and said, There is nothing. And he said, Go again seven times. %%% N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Genda nate emirundi musanvu. 11K1I018.044 And it came to pass at the seventh time, that he said, Behold, there ariseth a little cloud out of the sea, like a man's hand. And he said, Go up, say unto Ahab, Prepare thy chariot, and get thee down, that the rain stop thee not. %%% Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu, n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza. 11K1I018.045 And it came to pass in the mean while, that the heaven was black with clouds and wind, and there was a great rain. And Ahab rode, and went to Jezreel. %%% Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda ebire n'embuyaga, ne waba enkuba nnyingi. Akabu n'alinnya mu ggaali n'agenda e Yezuleeri. 11K1I018.046 And the hand of the LORD was on Elijah; and he girded up his loins, and ran before Ahab to the entrance of Jezreel. %%% Omukono gwa Mukama ne guba ku Eriya; ne yeesiba ekimyu n'addukira mu maaso ga Akabu okutuusa awayingirirwa e Yezuleeri. 11K1I019.001 And Ahab told Jezebel all that Elijah had done, and withal how he had slain all the prophets with the sword. %%% Awo Akabu n'abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola era bwe yatta bannabbi bonna n'ekitala. 11K1I019.002 Then Jezebel sent a messenger unto Elijah, saying, So let the gods do to me, and more also, if I make not thy life as the life of one of them by to morrow about this time. %%% Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, bwe sirifuula obulamu bwo okuba ng'obulamu bw'omu ku bo enkya bwe buliba nga kampegaano. 11K1I019.003 And when he saw that, he arose, and went for his life, and came to Beersheba, which belongeth to Judah, and left his servant there. %%% Awo bwe yalaba ekyo n'agolokoka n'agenda olw'obulamu bwe, n'ajja e Beeruseba ekya Yuda, n'alekayo omuddu we. 11K1I019.004 But he himself went a day's journey into the wilderness, and came and sat down under a juniper tree: and he requested for himself that he might die; and said, It is enough; now, O LORD, take away my life; for I am not better than my fathers. %%% Naye ye yennyini n'atambula olugendo olw'olunaku lumu mu ddungu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ai Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi. 11K1I019.005 And as he lay and slept under a juniper tree, behold, then an angel touched him, and said unto him, Arise and eat. %%% N'agalamira ne yeebaka wansi w'omwoloola; kale, laba malayika n'amukomako, n'amugamba nti Golokoka olye. 11K1I019.006 And he looked, and, behold, there was a cake baken on the coals, and a cruse of water at his head. And he did eat and drink, and laid him down again. %%% N'atunula, kale, laba, omugaati nga guli awali omutwe gwe ogwokeddwa ku manda n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate. 11K1I019.007 And the angel of the LORD came again the second time, and touched him, and said, Arise and eat; because the journey is too great for thee. %%% Malayika wa Mukama n'ajja nate omulundi ogw'okubiri n'amukomako n'ayogera nti Golokoka olye; kubanga olugendo lukuyinze obunene. 11K1I019.008 And he arose, and did eat and drink, and went in the strength of that meat forty days and forty nights unto Horeb the mount of God. %%% N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro n'atuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda. 11K1I019.009 And he came thither unto a cave, and lodged there; and, behold, the word of the LORD came to him, and he said unto him, What doest thou here, Elijah? %%% N'atuukayo n'ayingira mu mpuku, n'asula omwo; kale, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amugamba nti Okola ki wano, Eriya? 11K1I019.010 And he said, I have been very jealous for the LORD God of hosts: for the children of Israel have forsaken thy covenant, thrown down thine altars, and slain thy prophets with the sword; and I, even I only, am left; and they seek my life, to take it away. %%% N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo. 11K1I019.011 And he said, Go forth, and stand upon the mount before the LORD. And, behold, the LORD passed by, and a great and strong wind rent the mountains, and brake in pieces the rocks before the LORD; but the LORD was not in the wind: and after the wind an earthquake; but the LORD was not in the earthquake: %%% N'ayogera nti Fuluma oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi: 11K1I019.012 And after the earthquake a fire; but the LORD was not in the fire: and after the fire a still small voice. %%% awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa. 11K1I019.013 And it was so, when Elijah heard it, that he wrapped his face in his mantle, and went out, and stood in the entering in of the cave. And, behold, there came a voice unto him, and said, What doest thou here, Elijah? %%% Awo olwatuuka Eriya bwe yaliwulira, ne yeebikka amaaso ge mu munagiro, n'afuluma n'ayimirira mu mulyango gw'empuku. Kale, laba, ne wamujjira eddoboozi, ne lyogera nti Okola ki wano, Eriya? 11K1I019.014 And he said, I have been very jealous for the LORD God of hosts: because the children of Israel have forsaken thy covenant, thrown down thine altars, and slain thy prophets with the sword; and I, even I only, am left; and they seek my life, to take it away. %%% N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo; basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala; nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo. 11K1I019.015 And the LORD said unto him, Go, return on thy way to the wilderness of Damascus: and when thou comest, anoint Hazael to be king over Syria: %%% Awo Mukama n'amugamba nti Genda oddeyo mu kkubo lyo eri eddungu ery'e Ddamasiko: kale bw'olituuka ofukanga amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w'e Busuuli: 11K1I019.016 And Jehu the son of Nimshi shalt thou anoint to be king over Israel: and Elisha the son of Shaphat of Abelmeholah shalt thou anoint to be prophet in thy room. %%% ne Yeeku mutabani wa Nimusi omufukangako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: ne Erisa mutabani wa Safati ow'e Aberumekola omufukangako amafuta okuba nnabbi mu kifo kyo. 11K1I019.017 And it shall come to pass, that him that escapeth the sword of Hazael shall Jehu slay: and him that escapeth from the sword of Jehu shall Elisha slay. %%% Awo olulituuka oyo anaawonanga ekitala kya Kazayeeri Yeeku anamuttanga: n'oyo anaawonanga ekitala kya Yeeku Erisa anaamuttanga. 11K1I019.018 Yet I have left me seven thousand in Israel, all the knees which have not bowed unto Baal, and every mouth which hath not kissed him. %%% Era naye ndyesigaliza akasanvu mu Isiraeri amaviivi gonna agatafukaamiriranga Baali na buli kamwa akatamunywegeranga. 11K1I019.019 So he departed thence, and found Elisha the son of Shaphat, who was plowing with twelve yoke of oxen before him, and he with the twelfth: and Elijah passed by him, and cast his mantle upon him. %%% Awo n'avaayo n'asanga Erisa mutabani wa Safati eyali ng'alima ng'alina mu maaso ge emigogo gy'ente kkumi n'ebiri, ye ng'alina ogw'ekkumi n'ebiri: awo Eriya n'asomoka okugenda gy'ali n'amusuulako omunagiro gwe. 11K1I019.020 And he left the oxen, and ran after Elijah, and said, Let me, I pray thee, kiss my father and my mother, and then I will follow thee. And he said unto him, Go back again: for what have I done to thee? %%% Awo n'aleka ente, n'adduka mbiro okugoberera Eriya, n'ayogera nti Nkwegayiridde, ka mmale okunywegera kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. N'amugamba nti Ddayo; kubanga nkukoze ki? 11K1I019.021 And he returned back from him, and took a yoke of oxen, and slew them, and boiled their flesh with the instruments of the oxen, and gave unto the people, and they did eat. Then he arose, and went after Elijah, and ministered unto him. %%% N'addayo n'atamugoberera n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo n'ebintu eby'ente, n'agabira abantu ne balya. Awo n'agolokoka n'agoberera Eriya n'amuweereza. 11K1I020.001 And Benhadad the king of Syria gathered all his host together: and there were thirty and two kings with him, and horses, and chariots; and he went up and besieged Samaria, and warred against it. %%% Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna: ne waba wamu naye bakabaka amakumi asatu mu babiri n'embalassi n'amagaali: n'ayambuka n'azingiza Samaliya n'alwana nakyo. 11K1I020.002 And he sent messengers to Ahab king of Israel into the city, and said unto him, Thus saith Benhadad, %%% N'atumira Akabu kabaka wa Isiraeri ababaka mu kibuga, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti 11K1I020.003 Thy silver and thy gold is mine; thy wives also and thy children, even the goodliest, are mine. %%% Effeeza yo n'ezaabu yo yange; ne bakazi bo nabo n'abaana bo, abasinga obulungi, bange. 11K1I020.004 And the king of Israel answered and said, My lord, O king, according to thy saying, I am thine, and all that I have. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Kiri ng'ekigambo kyo, mukama wange, ai kabaka; nze wuwo ne byonna bye nnina. 11K1I020.005 And the messengers came again, and said, Thus speaketh Benhadad, saying, Although I have sent unto thee, saying, Thou shalt deliver me thy silver, and thy gold, and thy wives, and thy children; %%% Awo ababaka ne bakomawo ne boogera nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti Okutuma nakutumira nga njogera nti Oliwaayo gye ndi effeeza yo n'ezaabu yo ne bakazi bo n'abaana bo; 11K1I020.006 Yet I will send my servants unto thee to morrow about this time, and they shall search thine house, and the houses of thy servants; and it shall be, that whatsoever is pleasant in thine eyes, they shall put it in their hand, and take it away. %%% naye ndikutumira abaddu bange enkya bwe buliba nga kampegaano, kale balikebera ennyumba yo n'ennyumba z'abaddu bo; awo olulituuka kyonna kyonna ekisanyusa amaaso go balikiteeka mu mukono gwabwe ne bakitwala. 11K1I020.007 Then the king of Israel called all the elders of the land, and said, Mark, I pray you, and see how this man seeketh mischief: for he sent unto me for my wives, and for my children, and for my silver, and for my gold; and I denied him not. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita abakadde bonna ab'ensi, n'ayogera nti Mutegeere, mbeegayiridde, mulabe omusajja ono bw'alina ky'atwagaza: kubanga yantumira olw'abakazi bange n'abaana bange n'effeeza yange ne zaabu yange; ne simumma. 11K1I020.008 And all the elders and all the people said unto him, Hearken not unto him, nor consent. %%% Awo abakadde bonna n'abantu bonna ne bamugamba nti Towulira so tokkiriza. 11K1I020.009 Wherefore he said unto the messengers of Benhadad, Tell my lord the king, All that thou didst send for to thy servant at the first I will do: but this thing I may not do. And the messengers departed, and brought him word again. %%% Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino siyinza kukikola. Ababaka ne bagenda ne bamuddiza ebigambo. 11K1I020.010 And Benhadad sent unto him, and said, The gods do so unto me, and more also, if the dust of Samaria shall suffice for handfuls for all the people that follow me. %%% Awo Benikadadi n'amutumira n'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, enfuufu ey'e Samaliya bw'eribuna abantu bonna abangoberera okuba embatu. 11K1I020.011 And the king of Israel answered and said, Tell him, Let not him that girdeth on his harness boast himself as he that putteth it off. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba ebyokulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula. 11K1I020.012 And it came to pass, when Ben-hadad heard this message, as he was drinking, he and the kings in the pavilions, that he said unto his servants, Set yourselves in array. And they set themselves in array against the city. %%% Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, bwe yali ng'anywera, ye ne bakabaka abo, mu weema, n'agamba abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n’ekibuga. 11K1I020.013 And, behold, there came a prophet unto Ahab king of Israel, saying, Thus saith the LORD, Hast thou seen all this great multitude? behold, I will deliver it into thine hand this day; and thou shalt know that I am the LORD. %%% Kale, laba, nnabbi n'asemberera Akabu kabaka wa Isiraeri, n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olabye ekibiina kino kyonna ekinene? laba, naakigabula mu mukono gwo leero; naawe onoomanya nga nze Mukama. 11K1I020.014 And Ahab said, By whom? And he said, Thus saith the LORD, Even by the young men of the princes of the provinces. Then he said, Who shall order the battle? And he answered, Thou. %%% Akabu n'ayogera nti Eri ani? N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Eri abalenzi ab'abakulu b'amasaza. Awo n'ayogera nti Ani anaasooka okulwana? N'addamu nti Ggwe. 11K1I020.015 Then he numbered the young men of the princes of the provinces, and they were two hundred and thirty two: and after them he numbered all the people, even all the children of Israel, being seven thousand. %%% Awo n'ayolesa abalenzi ab'abakulu b'amasaza, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri: awo oluvannyuma lwabwe n'ayolesa abantu bonna, abaana ba Isiraeri bonna, ke kasanvu. 11K1I020.016 And they went out at noon. But Benhadad was drinking himself drunk in the pavilions, he and the kings, the thirty and two kings that helped him. %%% Awo ne batabaala mu ttuntu. Naye Benikadadi yali ng'ali mu weema ng'anywa omwenge ng'atamiira, ye ne bakabaka, bakabaka amakumi asatu mu babiri abaamubeera. 11K1I020.017 And the young men of the princes of the provinces went out first; and Benhadad sent out, and they told him, saying, There are men come out of Samaria. %%% Awo abalenzi ab'abakulu b'amasaza be baasooka okutabaala; Benikadadi n'atuma, ne bamubuulira nti Waliwo abasaja abafulumye mu Samaliya. 11K1I020.018 And he said, Whether they be come out for peace, take them alive; or whether they be come out for war, take them alive. %%% N'ayogera nti Ne bwe baba bafulumidde mirembe, mubawambe; ne bwe baba bafulumidde bulwa, mubawambe. 11K1I020.019 So these young men of the princes of the provinces came out of the city, and the army which followed them. %%% Awo abo ne bafuluma mu kibuga, abalenzi ab'abakulu b'amasaza, n'eggye eryabagoberera. 11K1I020.020 And they slew every one his man: and the Syrians fled; and Israel pursued them: and Benhadad the king of Syria escaped on an horse with the horsemen. %%% Ne batta buli muntu musajja we; Abasuuli ne badduka, Isiraeri ne babagoberera: Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'awonera ku mbalaasi wamu n'abeebagala embalaasi. 11K1I020.021 And the king of Israel went out, and smote the horses and chariots, and slew the Syrians with a great slaughter. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'afuluma n'akuba embalaasi n'amagaali, n'atta Abasuuli olutta lunene. 11K1I020.022 And the prophet came to the king of Israel, and said unto him, Go, strengthen thyself, and mark, and see what thou doest: for at the return of the year the king of Syria will come up against thee. %%% Awo nnabbi n'asemberera kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Genda oddemu amaanyi weetegereze olabe by'onookola: kubanga omwaka bwe gulidda kabaka w'e Busuuli alikutabaala. 11K1I020.023 And the servants of the king of Syria said unto him, Their gods are gods of the hills; therefore they were stronger than we; but let us fight against them in the plain, and surely we shall be stronger than they. %%% Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda waabwe katonda wa ku nsozi; kyebaava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, kale tetulirema kubasinga bo amaanyi. 11K1I020.024 And do this thing, Take the kings away, every man out of his place, and put captains in their rooms: %%% Era kola kino; ggyawo bakabaka buli muntu mu kifo kye, osseewo mu kifo kyabwe abaami: 11K1I020.025 And number thee an army, like the army that thou hast lost, horse for horse, and chariot for chariot: and we will fight against them in the plain, and surely we shall be stronger than they. And he hearkened unto their voice, and did so. %%% era weebalire eggye erifaanana eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwanira nabo mu lusenyi, era tetulirema kubasinga amaanyi. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo. 11K1I020.026 And it came to pass at the return of the year, that Benhadad numbered the Syrians, and went up to Aphek, to fight against Israel. %%% Awo olwatuuka omwaka bwe gwadda Benikadadi n’ayolesa Abasuuli n'ayambuka n'agenda e Afeki okulwana ne Isiraeri. 11K1I020.027 And the children of Israel were numbered, and were all present, and went against them: and the children of Israel pitched before them like two little flocks of kids; but the Syrians filled the country. %%% Awo abaana ba Isiraeri ne bayolesebwa ne baweebwa entanda yaabwe, ne babatabaala: awo abaana ba Isiraeri ne basiisira okuboolekera nga bafaanana ebisibo bibiri ebitono eby'abaana b'embuzi: naye Abasuuli ne babuna ensi. 11K1I020.028 And there came a man of God, and spake unto the king of Israel, and said, Thus saith the LORD, Because the Syrians have said, The LORD is God of the hills, but he is not God of the valleys, therefore will I deliver all this great multitude into thine hand, and ye shall know that I am the LORD. %%% Awo omusajja wa Katonda n'asembera n'agamba kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, naye si katonda wa mu biwonvu; kyendiva ngabula mu mukono gwo ekibiina kino kyonna ekinene, nammwe mulimanya nga nze Mukama. 11K1I020.029 And they pitched one over against the other seven days. And so it was, that in the seventh day the battle was joined: and the children of Israel slew of the Syrians an hundred thousand footmen in one day. %%% Awo ne basiisira nga basulaganako ne bamala ennaku musanvu. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne balumbagana; abaana ba Isiraeri ne batta ku Basuuli abasajja abatambula n'ebigere kasiriivu ku lunaku lumu. 11K1I020.030 But the rest fled to Aphek, into the city; and there a wall fell upon twenty and seven thousand of the men that were left. And Benhadad fled, and came into the city, into an inner chamber. %%% Naye abalala ne baddukira e Afeki mu kibuga; awo bbugwe n'agwa ku basajja obukumi bubiri mu kasanvu abaasigalawo. Ne Benikadadi n'adduka n'atuuka mu kibuga mu kisenge eky'omunda. 11K1I020.031 And his servants said unto him, Behold now, we have heard that the kings of the house of Israel are merciful kings: let us, I pray thee, put sackcloth on our loins, and ropes upon our heads, and go out to the king of Israel: peradventure he will save thy life. %%% Abaddu be ne bamugamba nti Laba nno, tuwulidde nga bakabaka b'ennyumba ya Isiraeri bakabaka ba kisa: tukwegayiridde, twambale ebibukutu mu biwato n'emigwa ku mitwe gyaffe, tufulume eri kabaka wa Isiraeri: mpozzi anaawonya obulamu bwo. 11K1I020.032 So they girded sackcloth on their loins, and put ropes on their heads, and came to the king of Israel, and said, Thy servant Benhadad saith, I pray thee, let me live. And he said, Is he yet alive? he is my brother. %%% Awo ne beesiba ebibukutu mu biwato ne batikkira emigwa ku mitwe, ne bajja eri kabaka wa Isiraeri, ne boogera nti Omuddu wo Benikadadi ayogera nti Nkwegayiridde, mbeere omulamu. N'ayogera nti Akyali mulamu? ye muganda wange. 11K1I020.033 Now the men did diligently observe whether any thing would come from him, and did hastily catch it: and they said, Thy brother Benhadad. Then he said, Go ye, bring him. Then Benhadad came forth to him; and he caused him to come up into the chariot. %%% Awo abasajja ne balabirira nnyo ne banguwa okwetegereza oba nga bw'ayagala bw'atyo; ne boogera nti Muganda wo Benikadadi. Awo n'ayogera nti Mugende mumuleete. Awo Benikadadi n'afuluma n'ajja gy'ali; n'amulinnyisa mu ggaali. 11K1I020.034 And Ben-hadad said unto him, The cities, which my father took from thy father, I will restore; and thou shalt make streets for thee in Damascus, as my father made in Samaria. Then said Ahab, I will send thee away with this covenant. So he made a covenant with him, and sent him away. %%% Awo Benikadadi n'amugamba nti Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo nze ndibizzaayo; era olyerimira enguudo mu Ddamasiko, nga kitange bwe yeerimira mu Samaliya. Nange, bwe yayogera Akabu, naakuta ne ndagaano eno. Awo n'alagaana naye endagaano n'amuta. 11K1I020.035 And a certain man of the sons of the prophets said unto his neighbour in the word of the LORD, Smite me, I pray thee. And the man refused to smite him. %%% Awo omusajja omu ow'oku baana ba bannabbi n'agamba munne olw'ekigambo kya Mukama nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'agaana okumufumita. 11K1I020.036 Then said he unto him, Because thou hast not obeyed the voice of the LORD, behold, as soon as thou art departed from me, a lion shall slay thee. And as soon as he was departed from him, a lion found him, and slew him. %%% Awo n'amugamba nti Kubanga towulidde ddoboozi lya Mukama, laba, bw'onooba nga kyojje onveeko, empologoma eneekutta. Awo bwe yali nga kyajje amuveeko, empologoma n'emusanga n'emutta. 11K1I020.037 Then he found another man, and said, Smite me, I pray thee. And the man smote him, so that in smiting he wounded him. %%% Awo n'asanga omusajja omulala, n'ayogera nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'amufumita ng'amufumita ekiwundu. 11K1I020.038 So the prophet departed, and waited for the king by the way, and disguised himself with ashes upon his face. %%% Awo nnabbi n'agenda n'alindirira kabaka mu kkubo, ne yeefuula ng'abisse ekiremba kye ku maaso ge. 11K1I020.039 And as the king passed by, he cried unto the king: and he said, Thy servant went out into the midst of the battle; and, behold, a man turned aside, and brought a man unto me, and said, Keep this man: if by any means he be missing, then shall thy life be for his life, or else thou shalt pay a talent of silver. %%% Awo kabaka bwe yali ayitawo, n'akaabirira kabaka: n'ayogera nti Omuddu wo yafuluma wakati mu lutalo; kale, laba, omusajja n'akyama n'andeetera omusajja n'ayogera nti Kuuma omusajja ono: okubula bw'aliba ng'abuze, kale obulamu bwo buliba mu kifo ky'obulamu bwe, oba oliriwa talanta ey'effeeza. 11K1I020.040 And as thy servant was busy here and there, he was gone. And the king of Israel said unto him, So shall thy judgment be; thyself hast decided it. %%% Awo omuddu wo bwe yali ng'atawaana eruuyi n'eruuyi, ng'agenze. Awo kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Era bwe gutyo bwe gunaaba omusango gwo; ggwe ogusaze ggwe kennyini. 11K1I020.041 And he hasted, and took the ashes away from his face; and the king of Israel discerned him that he was of the prophets. %%% Awo n'ayanguwa n'aggya ekiremba ku maaso ge; kabaka wa Isiraeri n'amutegeera nga wa ku bannabbi. 11K1I020.042 And he said unto him, Thus saith the LORD, Because thou hast let go out of thy hand a man whom I appointed to utter destruction, therefore thy life shall go for his life, and thy people for his people. %%% N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga wata omusajja ow'ekiwe gye ndi okuva mu mukono gwo, obulamu bwo kyebuliva bubeera mu kifo ky'obulamu bwe, n'abantu bo baliba mu kifo ky'abantu be. 11K1I020.043 And the king of Israel went to his house heavy and displeased, and came to Samaria. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize, n'ajja e Samaliya. 11K1I021.001 And it came to pass after these things, that Naboth the Jezreelite had a vineyard, which was in Jezreel, hard by the palace of Ahab king of Samaria. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Nabosi Omuyezuleeri yalina olusuku olw'emizabbibu olwali mu Yezuleeri kumpi n'olubiri lwa Akabu kabaka w'e Samaliya. 11K1I021.002 And Ahab spake unto Naboth, saying, Give me thy vineyard, that I may have it for a garden of herbs, because it is near unto my house: and I will give thee for it a better vineyard than it; or, if it seem good to thee, I will give thee the worth of it in money. %%% Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli. 11K1I021.003 And Naboth said to Ahab, The LORD forbid it me, that I should give the inheritance of my fathers unto thee. %%% Awo Nabosi n'agamba Akabu nti Mukama akiddize eri gye ndi nkuwe obusika bwa bajjajjange. 11K1I021.004 And Ahab came into his house heavy and displeased because of the word which Naboth the Jezreelite had spoken to him: for he had said, I will not give thee the inheritance of my fathers. And he laid him down upon his bed, and turned away his face, and would eat no bread. %%% Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga ayogedde nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. N'agalamira ku kitanda kye n'akyusa amaaso ge n'atakkiriza kulya ku mmere. 11K1I021.005 But Jezebel his wife came to him, and said unto him, Why is thy spirit so sad, that thou eatest no bread? %%% Naye Yezeberi mukazi we n'ajja gy'ali, n'amugamba nti Kiki ekinakuwazizza omwoyo gwo obwenkanidde awo, n'okulya n'otolya ku mmere? 11K1I021.006 And he said unto her, Because I spake unto Naboth the Jezreelite, and said unto him, Give me thy vineyard for money; or else, if it please thee, I will give thee another vineyard for it: and he answered, I will not give thee my vineyard. %%% N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijja kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu. 11K1I021.007 And Jezebel his wife said unto him, Dost thou now govern the kingdom of Israel? arise, and eat bread, and let thine heart be merry: I will give thee the vineyard of Naboth the Jezreelite. %%% Yezeberi mukazi we n'amugamba nti Ggwe ofuga nno obwakabaka bwa Isiraeri? golokoka olye ku mmere, omutima gwo gusanyuke: nze ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri. 11K1I021.008 So she wrote letters in Ahab's name, and sealed them with his seal, and sent the letters unto the elders and to the nobles that were in his city, dwelling with Naboth. %%% Awo n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ke, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga kye era abaatuula awali Nabosi. 11K1I021.009 And she wrote in the letters, saying, Proclaim a fast, and set Naboth on high among the people: %%% N'awandiika mu bbaluwa ng'ayogera nti Mulangire okusiiba, mumuteeke Nabosi waggulu mu bantu 11K1I021.010 And set two men, sons of Belial, before him, to bear witness against him, saying, Thou didst blaspheme God and the king. And then carry him out, and stone him, that he may die. %%% muteeke abasajja babiri aba Beriali mu maaso ge, bamulumirize nga boogera nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukasuukirire amayinja afe. 11K1I021.011 And the men of his city, even the elders and the nobles who were the inhabitants in his city, did as Jezebel had sent unto them, and as it was written in the letters which she had sent unto them. %%% Awo abasajja ab'omu kibuga kye abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza. 11K1I021.012 They proclaimed a fast, and set Naboth on high among the people. %%% Awo ne balangira okusiiba, ne bamuteeka waggulu Nabosi mu bantu. 11K1I021.013 And there came in two men, children of Belial, and sat before him: and the men of Belial witnessed against him, even against Naboth, in the presence of the people, saying, Naboth did blaspheme God and the king. Then they carried him forth out of the city, and stoned him with stones, that he died. %%% Abasajja babiri abaana ba Beriali ne bayingira ne batuula mu maaso ge: abasajja ba Beriali ne bamulumiriza, nga balumiriza Nabosi mu maaso g'abantu, nga boogera nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukasuukirira amayinja n'afa. 11K1I021.014 Then they sent to Jezebel, saying, Naboth is stoned, and is dead. %%% Awo ne batumira Yezeberi nga boogera nti Nabosi akasuukiriddwa amayinja afudde. 11K1I021.015 And it came to pass, when Jezebel heard that Naboth was stoned, and was dead, that Jezebel said to Ahab, Arise, take possession of the vineyard of Naboth the Jezreelite, which he refused to give thee for money: for Naboth is not alive, but dead. %%% Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawulira Nabosi ng'akasuukiriddwa amayinja era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Golokoka olye olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuwa olw'ebintu kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde. 11K1I021.016 And it came to pass, when Ahab heard that Naboth was dead, that Ahab rose up to go down to the vineyard of Naboth the Jezreelite, to take possession of it. %%% Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira Nabosi ng'afudde, awo Akabu n'agolokoka okuserengeta mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri okululya. 11K1I021.017 And the word of the LORD came to Elijah the Tishbite, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti 11K1I021.018 Arise, go down to meet Ahab king of Israel, which is in Samaria: behold, he is in the vineyard of Naboth, whither he is gone down to possess it. %%% Golokoka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okululya. 11K1I021.019 And thou shalt speak unto him, saying, Thus saith the LORD, Hast thou killed, and also taken possession? And thou shalt speak unto him, saying, Thus saith the LORD, In the place where dogs licked the blood of Naboth shall dogs lick thy blood, even thine. %%% Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zaakombera omusaayi gwa Nabosi, embwa mwe zirikombera omusaayi gwo, weewaawo, ogugwo. 11K1I021.020 And Ahab said to Elijah, Hast thou found me, O mine enemy? And he answered, I have found thee: because thou hast sold thyself to work evil in the sight of the LORD. %%% Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ondabye, ggwe omulabe wange? N'addamu nti Nkulabye: kubanga weetunze okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi. 11K1I021.021 Behold, I will bring evil upon thee, and will take away thy posterity, and will cut off from Ahab him that pisseth against the wall, and him that is shut up and left in Israel, %%% Laba, adikuleetako akabi, era ndikwerera ddala, era ndimalawo eri Akabu buli mwana ow'obulenzi n'oyo asibiddwa n'atasibiddwa mu Isiraeri: 11K1I021.022 And will make thine house like the house of Jeroboam the son of Nebat, and like the house of Baasha the son of Ahijah, for the provocation wherewith thou hast provoked me to anger, and made Israel to sin. %%% era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerubowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri. 11K1I021.023 And of Jezebel also spake the LORD, saying, The dogs shall eat Jezebel by the wall of Jezreel. %%% Era Mukama n'ayogera ne ku Yezeberi nti Embwa ziririira Yezeberi awali ekigo eky'e Yezuleeri. 11K1I021.024 Him that dieth of Ahab in the city the dogs shall eat; and him that dieth in the field shall the fowls of the air eat. %%% Owa Akabu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n’oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga, 11K1I021.025 But there was none like unto Ahab, which did sell himself to work wickedness in the sight of the LORD, whom Jezebel his wife stirred up. %%% (Naye tewali eyafaanana Akabu eyeetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi Yezeberi mukazi we gwe yapikiriza. 11K1I021.026 And he did very abominably in following idols, according to all things as did the Amorites, whom the LORD cast out before the children of Israel. %%% N'akolanga eby'emizizo ennyo ng'agoberera ebifaananyi nga byonna bwe byali Abamoli bye baakolanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.) 11K1I021.027 And it came to pass, when Ahab heard those words, that he rent his clothes, and put sackcloth upon his flesh, and fasted, and lay in sackcloth, and went softly. %%% Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu ku mubiri gwe n'asiiba n'agalamira ng'ayambadde ebibukutu n'atambula mpola. 11K1I021.028 And the word of the LORD came to Elijah the Tishbite, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti 11K1I021.029 Seest thou how Ahab humbleth himself before me? because he humbleth himself before me, I will not bring the evil in his days: but in his son's days will I bring the evil upon his house. %%% Olaba Akabu bwe yeetoowaza mu maaso gange? kubanga yeetoowaza mu maaso gange, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe ya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye. 11K1I022.001 And they continued three years without war between Syria and Israel. %%% Awo ne bamala emyaka esatu nga tewali bulwa eri Obusuuli ne Isiraeri. 11K1I022.002 And it came to pass in the third year, that Jehoshaphat the king of Judah came down to the king of Israel. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n'aserengeta eri kabaka wa Isiraeri. 11K1I022.003 And the king of Israel said unto his servants, Know ye that Ramoth in Gilead is ours, and we be still, and take it not out of the hand of the king of Syria? %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba abaddu be nti Mumanyi nga Lamosugireyaadi kyaffe, naffe tusirika ne tutakiggya mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli? 11K1I022.004 And he said unto Jehoshaphat, Wilt thou go with me to battle to Ramothgilead? And Jehoshaphat said to the king of Israel, I am as thou art, my people as thy people, my horses as thy horses. %%% N'agamba Yekosafaati nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi okulwana? Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nze nninga ggwe bw'oli, abantu bange ng'abantu bo, embalaasi zange ng'embalaasi zo. 11K1I022.005 And Jehoshaphat said unto the king of Israel, Enquire, I pray thee, at the word of the LORD to day. %%% Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, buuza ekigambo kya Mukama leero. 11K1I022.006 Then the king of Israel gathered the prophets together, about four hundred men, and said unto them, Shall I go against Ramothgilead to battle, or shall I forbear? And they said, Go up; for the LORD shall deliver it into the hand of the king. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ng'ebikumi bina, n'abagamba nti Ntabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. 11K1I022.007 And Jehoshaphat said, Is there not here a prophet of the LORD besides, that we might enquire of him? %%% Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuze? 11K1I022.008 And the king of Israel said unto Jehoshaphat, There is yet one man, Micaiah the son of Imlah, by whom we may enquire of the LORD: but I hate him; for he doth not prophesy good concerning me, but evil. And Jehoshaphat said, Let not the king say so. %%% Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama, Mikaaya mutabani wa Imula: naye mmukyawa; kubanga tandagulako birungi wabula ebibi. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo. 11K1I022.009 Then the king of Israel called an officer, and said, Hasten hither Micaiah the son of Imlah. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula. 11K1I022.010 And the king of Israel and Jehoshaphat the king of Judah sat each on his throne, having put on their robes, in a void place in the entrance of the gate of Samaria; and all the prophets prophesied before them. %%% Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe. 11K1I022.011 And Zedekiah the son of Chenaanah made him horns of iron: and he said, Thus saith the LORD, With these shalt thou push the Syrians, until thou have consumed them. %%% Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo. 11K1I022.012 And all the prophets prophesied so, saying, Go up to Ramothgilead, and prosper: for the LORD shall deliver it into the king's hand. %%% Ne bannabbi bonna ne balaguIa bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. 11K1I022.013 And the messenger that was gone to call Micaiah spake unto him, saying, Behold now, the words of the prophets declare good unto the king with one mouth: let thy word, I pray thee, be like the word of one of them, and speak that which is good. %%% Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba nno, ebigambo bya bannabbi bibuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi. 11K1I022.014 And Micaiah said, As the LORD liveth, what the LORD saith unto me, that will I speak. %%% Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ky'anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera. 11K1I022.015 So he came to the king. And the king said unto him, Micaiah, shall we go against Ramothgilead to battle, or shall we forbear? And he answered him, Go, and prosper: for the LORD shall deliver it into the hand of the king. %%% Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? N'amuddamu nti Yambuka olabe omukisa; era Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. 11K1I022.016 And the king said unto him, How many times shall I adjure thee that thou tell me nothing but that which is true in the name of the LORD? %%% Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n'ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama? 11K1I022.017 And he said, I saw all Israel scattered upon the hills, as sheep that have not a shepherd: and the LORD said, These have no master: let them return every man to his house in peace. %%% N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe; baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe. 11K1I022.018 And the king of Israel said unto Jehoshaphat, Did I not tell thee that he would prophesy no good concerning me, but evil? %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Sikugambye nga taalagule birungi eri nze wabula ebibi? 11K1I022.019 And he said, Hear thou therefore the word of the LORD: I saw the LORD sitting on his throne, and all the host of heaven standing by him on his right hand and on his left. %%% N'ayogera nti Kale wulira ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde gy'ali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 11K1I022.020 And the LORD said, Who shall persuade Ahab, that he may go up and fall at Ramothgilead? And one said on this manner, and another said on that manner. %%% Mukama n'ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu ayambuke e Lamosugireyaadi agwe? Omu n'ayogera bw'atyo; omulala n'ayogera bw'atyo. 11K1I022.021 And there came forth a spirit, and stood before the LORD, and said, I will persuade him. %%% Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze naamusendasenda. 11K1I022.022 And the LORD said unto him, Wherewith? And he said, I will go forth, and I will be a lying spirit in the mouth of all his prophets. And he said, Thou shalt persuade him, and prevail also: go forth, and do so. %%% Mukama n'agugamba nti Otya? Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. Naayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma okole bw'otyo. 11K1I022.023 Now therefore, behold, the LORD hath put a lying spirit in the mouth of all these thy prophets, and the LORD hath spoken evil concerning thee. %%% Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano bonna: era Mukama akwogeddeko akabi. 11K1I022.024 But Zedekiah the son of Chenaanah went near, and smote Micaiah on the cheek, and said, Which way went the Spirit of the LORD from me to speak unto thee? %%% Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'akuba Mikaaya oluyi, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe? 11K1I022.025 And Micaiah said, Behold, thou shalt see in that day, when thou shalt go into an inner chamber to hide thyself. %%% Mikaaya n'ayogera nti Laba, oliraba ku lunaku olwo bw'oliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka. 11K1I022.026 And the king of Israel said, Take Micaiah, and carry him back unto Amon the governor of the city, and to Joash the king's son; %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka; 11K1I022.027 And say, Thus saith the king, Put this fellow in the prison, and feed him with bread of affliction and with water of affliction, until I come in peace. %%% mwogere nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe. 11K1I022.028 And Micaiah said, If thou return at all in peace, the LORD hath not spoken by me. And he said, Hearken, O people, every one of you. %%% Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna. 11K1I022.029 So the king of Israel and Jehoshaphat the king of Judah went up to Ramothgilead. %%% Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 11K1I022.030 And the king of Israel said unto Jehoshaphat, I will disguise myself, and enter into the battle; but put thou on thy robes. And the king of Israel disguised himself, and went into the battle. %%% Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula n'ayingira mu lutalo. 11K1I022.031 But the king of Syria commanded his thirty and two captains that had rule over his chariots, saying, Fight neither with small nor great, save only with the king of Israel. %%% Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami amakumi asatu mu babiri ab'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka. 11K1I022.032 And it came to pass, when the captains of the chariots saw Jehoshaphat, that they said, Surely it is the king of Israel. And they turned aside to fight against him: and Jehoshaphat cried out. %%% Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; ne bakyama okulwana naye: Yekosafaati n'ayogerera waggulu. 11K1I022.033 And it came to pass, when the captains of the chariots perceived that it was not the king of Israel, that they turned back from pursuing him. %%% Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, awo ne bakoma okumugoberera. 11K1I022.034 And a certain man drew a bow at a venture, and smote the king of Israel between the joints of the harness: wherefore he said unto the driver of his chariot, Turn thine hand, and carry me out of the host; for I am wounded. %%% Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggaali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumitiddwa nnyo. 11K1I022.035 And the battle increased that day: and the king was stayed up in his chariot against the Syrians, and died at even: and the blood ran out of the wound into the midst of the chariot. %%% Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: kabaka ne bamukwatirira mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, n'afa akawungeezi: omusaayi ne guva mu kiwundu ne gukulukutira munda w'eggaali. 11K1I022.036 And there went a proclamation throughout the host about the going down of the sun, saying, Every man to his city, and every man to his own country. %%% Awo ne waba okulangirwa mu ggye lyonna enjuba ng'eyagala okugwa nga boogera nti Buli muntu adde mu kibuga ky'ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y'ewaabwe. 11K1I022.037 So the king died, and was brought to Samaria; and they buried the king in Samaria. %%% Awo kabaka n'afa n'aleetebwa e Samaliya; ne baziika kabaka mu Samaliya. 11K1I022.038 And one washed the chariot in the pool of Samaria; and the dogs licked up his blood; and they washed his armour; according unto the word of the LORD which he spake. %%% Ne booleza eggaali awali ekidiba eky'e Samaliya; embwa ne zikomba omusaayi gwe; (era abenzi baanaabiranga eyo;) ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera. 11K1I022.039 Now the rest of the acts of Ahab, and all that he did, and the ivory house which he made, and all the cities that he built, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akabu ne byonna bye yakola n'ennyumba ey'amasanga gye yazimba n'ebibuga byonna bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 11K1I022.040 So Ahab slept with his fathers; and Ahaziah his son reigned in his stead. %%% Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I022.041 And Jehoshaphat the son of Asa began to reign over Judah in the fourth year of Ahab king of Israel. %%% Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n'atanula okufuga Yuda mu mwaka ogw'okuna ogwa Akabu kabaka wa Isiraeri. 11K1I022.042 Jehoshaphat was thirty and five years old when he began to reign; and he reigned twenty and five years in Jerusalem. And his mother's name was Azubah the daughter of Shilhi. %%% Yekosafaati yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yalya obwakabaka: n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye lyali Azuba muwala wa Siruki. 11K1I022.043 And he walked in all the ways of Asa his father; he turned not aside from it, doing that which was right in the eyes of the LORD: nevertheless the high places were not taken away; for the people offered and burnt incense yet in the high places. %%% Awo n'atambuliranga mu kkubo lyonna erya Asa kitaawe; n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ne bootereza obubaane mu bifo ebigulumivu. 11K1I022.044 And Jehoshaphat made peace with the king of Israel. %%% Era Yekosafaati n'atabagana ne kabaka wa Isiraeri. 11K1I022.045 Now the rest of the acts of Jehoshaphat, and his might that he shewed, and how he warred, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati n'amaanyi ge ge yalaga era bwe yalwana tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 11K1I022.046 And the remnant of the sodomites, which remained in the days of his father Asa, he took out of the land. %%% N'abaalyanga ebisiyaga abaasigalawo ku mirembe gya kitaawe Asa n'abaggya mu nsi. 11K1I022.047 There was then no king in Edom: a deputy was king. %%% Awo nga tewali kabaka mu Edomu: omusigire nga ye kabaka. 11K1I022.048 Jehoshaphat made ships of Tharshish to go to Ophir for gold: but they went not; for the ships were broken at Eziongeber. %%% Yekosafaati n'asiba malikebu ez'e Talusiisi ez'okugenda e Ofiri okukimayo ezaabu: naye ne zitagenda; kubanga malikebu zaamenyekera e Ezyonigeba. 11K1I022.049 Then said Ahaziah the son of Ahab unto Jehoshaphat, Let my servants go with thy servants in the ships. But Jehoshaphat would not. %%% Awo Akaziya mutabani wa Akabu n'agamba Yekosafaati nti Abaddu bange bagende n'abaddu bo mu malikebu. Naye Yekosafaati n'atakkiriza. 11K1I022.050 And Jehoshaphat slept with his fathers, and was buried with his fathers in the city of David his father: and Jehoram his son reigned in his stead. %%% Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: awo Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 11K1I022.051 Ahaziah the son of Ahab began to reign over Israel in Samaria the seventeenth year of Jehoshaphat king of Judah, and reigned two years over Israel. %%% Akaziya mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'afugira Isiraeri emyaka ebiri. 11K1I022.052 And he did evil in the sight of the LORD, and walked in the way of his father, and in the way of his mother, and in the way of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin: %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kkubo lya nnyina ne mu kkubo lya Yerobowaamu mutabani wa Nebati mwe yayonoonyesa Isiraeri. 11K1I022.053 For he served Baal, and worshipped him, and provoked to anger the LORD God of Israel, according to all that his father had done. %%% N'aweereza Baali n'amusinza n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola. 12K2I001.001 Then Moab rebelled against Israel after the death of Ahab. %%% Awo Mowaabu n'ajeemera Isiraeri Akabu ng'amaze okufa. 12K2I001.002 And Ahaziah fell down through a lattice in his upper chamber that was in Samaria, and was sick: and he sent messengers, and said unto them, Go, enquire of Baalzebub the god of Ekron whether I shall recover of this disease. %%% Akaziya n'agwa mu kituli ekiruke ekyali mu kisenge kye ekya waggulu ekyali mu Samaliya, n'alwala: n'atuma ababaka, n'abagamba nti Mugende mulagulwe eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni oba nga ndiwona endwadde eno. 12K2I001.003 But the angel of the LORD said to Elijah the Tishbite, Arise, go up to meet the messengers of the king of Samaria, and say unto them, Is it not because there is not a God in Israel, that ye go to enquire of Baalzebub the god of Ekron? %%% Naye malayika wa Mukama n'agamba Eriya Omutisubi nti Golokoka osisinkane ababaka ba kabaka w'e Samaliya obagambe nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyemuva mugenda okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? 12K2I001.004 Now therefore thus saith the LORD, Thou shalt not come down from that bed on which thou art gone up, but shalt surely die. And Elijah departed. %%% Kale nno, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Toliva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa. Eriya n'agenda. 12K2I001.005 And when the messengers turned back unto him, he said unto them, Why are ye now turned back? %%% Ababaka ne bakomawo gy'ali, n'abagamba nti Kiki ekibakomezzaawo? 12K2I001.006 And they said unto him, There came a man up to meet us, and said unto us, Go, turn again unto the king that sent you, and say unto him, Thus saith the LORD, Is it not because there is not a God in Israel, that thou sendest to enquire of Baalzebub the god of Ekron? therefore thou shalt not come down from that bed on which thou art gone up, but shalt surely die. %%% Ne bamugamba nti Wazze omusajja okutusisinkana n'atugamba nti Mugende muddeeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyova otuma okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa. 12K2I001.007 And he said unto them, What manner of man was he which came up to meet you, and told you these words? %%% N'abagamba nti Omusajja azze okubasisinkana n'ababuulira ebigambo ebyo afaananye atya? 12K2I001.008 And they answered him, He was an hairy man, and girt with a girdle of leather about his loins. And he said, It is Elijah the Tishbite. %%% Ne bamuddamu nti Yali musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye. 12K2I001.009 Then the king sent unto him a captain of fifty with his fifty. And he went up to him: and, behold, he sat on the top of an hill. And he spake unto him, Thou man of God, the king hath said, Come down. %%% Awo kabaka n'atuma gy'ali omwami w'ataano n'abasajja be ataano. N'ayambuka gy'ali: kale, laba, ng'atudde ku ntikko y'olusozi. N'ayogera naye nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka ayogedde nti Serengeta. 12K2I001.010 And Elijah answered and said to the captain of fifty, If I be a man of God, then let fire come down from heaven, and consume thee and thy fifty. And there came down fire from heaven, and consumed him and his fifty. %%% Awo Eriya n'addamu n'agamba omwami w'ataano nti Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano. Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano. 12K2I001.011 Again also he sent unto him another captain of fifty with his fifty. And he answered and said unto him, O man of God, thus hath the king said, Come down quickly. %%% Awo n'atuma nate gy'ali omwami w'ataano omulala n'abasajja be ataano. N'addamu n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, bw'atyo kabaka bw'ayogedde nti Yanguwa okuserengeta. 12K2I001.012 And Elijah answered and said unto them, If I be a man of God, let fire come down from heaven, and consume thee and thy fifty. And the fire of God came down from heaven, and consumed him and his fifty. %%% Awo Eriya n'addamu n'abagamba nti Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano. Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano. 12K2I001.013 And he sent again a captain of the third fifty with his fifty. And the third captain of fifty went up, and came and fell on his knees before Elijah, and besought him, and said unto him, O man of God, I pray thee, let my life, and the life of these fifty thy servants, be precious in thy sight. %%% Awo n'atuma nate omwami w'ataano abalala n'abasajja be ataano. Omwami w'ataano ow'okusatu n'ayambuka n'ajja n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eriya, n'amwegayirira n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n'obulamu bwa bano ataano abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go. 12K2I001.014 Behold, there came fire down from heaven, and burnt up the two captains of the former fifties with their fifties: therefore let my life now be precious in thy sight. %%% Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami b'ataano bombi abaasoose n'abasajja baabwe ataano: naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go. 12K2I001.015 And the angel of the LORD said unto Elijah, Go down with him: be not afraid of him. And he arose, and went down with him unto the king. %%% Awo malayika wa Mukama n'agamba Eriya nti Serengeta naye tomutya. N'agolokoka n'aserengeta naye n'agenda eri kabaka. 12K2I001.016 And he said unto him, Thus saith the LORD, Forasmuch as thou hast sent messengers to enquire of Baalzebub the god of Ekron, is it not because there is no God in Israel to enquire of his word? therefore thou shalt not come down off that bed on which thou art gone up, but shalt surely die. %%% N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga watuma ababaka okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni, kubanga tewali katonda mu Isiraeri okulagulwa eri ekigambo kye kyewava okola bw'otyo? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa. 12K2I001.017 So he died according to the word of the LORD which Elijah had spoken. And Jehoram reigned in his stead in the second year of Jehoram the son of Jehoshaphat king of Judah; because he had no son. %%% Awo n'afa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali Eriya kye yayogera. Yekolaamu n'atanula okufuga mu kifo kye mu mwaka ogw'okubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda; kubanga teyalina mwana wa bulenzi. 12K2I001.018 Now the rest of the acts of Ahaziah which he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akaziya bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 12K2I002.001 And it came to pass, when the LORD would take up Elijah into heaven by a whirlwind, that Elijah went with Elisha from Gilgal. %%% Awo olwatuuka Mukama bwe yayagala okulinnyisa Eriya n'embuyaga ez'omuzimu mu ggulu, Eriya n'agenda ne Erisa ng'ava e Girugaali. 12K2I002.002 And Elijah said unto Elisha, Tarry here, I pray thee; for the LORD hath sent me to Bethel. And Elisha said unto him, As the LORD liveth, and as thy soul liveth, I will not leave thee. So they went down to Bethel. %%% Awo Eriya n'agamba Erisa nti Beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Beseri. Erisa n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne baserengeta ne bajja e Beseri. 12K2I002.003 And the sons of the prophets that were at Bethel came forth to Elisha, and said unto him, Knowest thou that the LORD will take away thy master from thy head to day? And he said, Yea, I know it; hold ye your peace. %%% Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bafuluma eri Erisa, ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'ayogera nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike. 12K2I002.004 And Elijah said unto him, Elisha, tarry here, I pray thee; for the LORD hath sent me to Jericho. And he said, As the LORD liveth, and as thy soul liveth, I will not leave thee. So they came to Jericho. %%% Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano. nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'ayogera nti Nga Mukama bw’ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne bajja e Yeriko. 12K2I002.005 And the sons of the prophets that were at Jericho came to Elisha, and said unto him, Knowest thou that the LORD will take away thy master from thy head to day? And he answered, Yea, I know it; hold ye your peace. %%% Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne bafuluma eri Erisa, ne basemberera Erisa ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike. 12K2I002.006 And Elijah said unto him, Tarry, I pray thee, here; for the LORD hath sent me to Jordan. And he said, As the LORD liveth, and as thy soul liveth, I will not leave thee. And they two went on. %%% Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'ayogera nti nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo abo bombi ne batambula. 12K2I002.007 And fifty men of the sons of the prophets went, and stood to view afar off: and they two stood by Jordan. %%% Awo abasajja amakumi ataano ab'oku baana ba bannabbi ne bagenda ne bayimirira okuboolekera wala nabo; abo bombi ne bayimirira ku Yoludaani. 12K2I002.008 And Elijah took his mantle, and wrapped it together, and smote the waters, and they were divided hither and thither, so that they two went over on dry ground. %%% Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba amazzi ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi n'okuyita ne bayita bombi ku lukalu. 12K2I002.009 And it came to pass, when they were gone over, that Elijah said unto Elisha, Ask what I shall do for thee, before I be taken away from thee. And Elisha said, I pray thee, let a double portion of thy spirit be upon me. %%% Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kye nnaakukolera nga sinnaba kukuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibere ku nze. 12K2I002.010 And he said, Thou hast asked a hard thing: nevertheless, if thou see me when I am taken from thee, it shall be so unto thee; but if not, it shall not be so. %%% N'ayogera nti Osabye kizibu: naye bw'onondaba bwe nnaakuggibwako kinaaba bwe kityo gy'oli; naye bw'otondabe tekiibe bwe kityo. 12K2I002.011 And it came to pass, as they still went on, and talked, that, behold, there appeared a chariot of fire, and horses of fire, and parted them both asunder; and Elijah went up by a whirlwind into heaven. %%% Awo olwatuuka nga bakyatambula nga boogera, laba, ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'alinnya mu ggulu n'embuyaga ez'omuzimu. 12K2I002.012 And Elisha saw it, and he cried, My father, my father, the chariot of Israel, and the horsemen thereof. And he saw him no more: and he took hold of his own clothes, and rent them in two pieces. %%% Era Erisa n'akiraba n'ayogerera waggulu nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'embalaasi ze! N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri. 12K2I002.013 He took up also the mantle of Elijah that fell from him, and went back, and stood by the bank of Jordan; %%% Era n'alonda n'ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'addayo n'ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani. 12K2I002.014 And he took the mantle of Elijah that fell from him, and smote the waters, and said, Where is the LORD God of Elijah? and when he also had smitten the waters, they parted hither and thither: and Elisha went over. %%% N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? awo ng'amaze okukuba amazzi naye, ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi: Erisa n'asomoka. 12K2I002.015 And when the sons of the prophets which were to view at Jericho saw him, they said, The spirit of Elijah doth rest on Elisha. And they came to meet him, and bowed themselves to the ground before him. %%% Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya gutuula ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge. 12K2I002.016 And they said unto him, Behold now, there be with thy servants fifty strong men; let them go, we pray thee, and seek thy master: lest peradventure the Spirit of the LORD hath taken him up, and cast him upon some mountain, or into some valley. And he said, Ye shall not send. %%% Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja amakumi ataano ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu; N'ayogera nti Temutuma. 12K2I002.017 And when they urged him till he was ashamed, he said, Send. They sent therefore fifty men; and they sought three days, but found him not. %%% Awo bwe baamutayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata, n'ayogera nti Mutume. Awo ne batuma abasajja amakumi ataano; ne banoonyeza ennaku ssatu naye ne batamulaba. 12K2I002.018 And when they came again to him, (for he tarried at Jericho,) he said unto them, Did I not say unto you, Go not? %%% Awo ne bakomawo gy'ali ng'akyalinda e Yeriko; n'abagamba nti Saabagamba nti Temugenda? 12K2I002.019 And the men of the city said unto Elisha, Behold, I pray thee, the situation of this city is pleasant, as my lord seeth: but the water is naught, and the ground barren. %%% Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Erisa nti Laba, tukwegayiridde, awali ekibuga kino walungi nga mukama wange bw'alaba: naye amazzi tegaliiko kye gagasa, n'ensi tekuza mmere. 12K2I002.020 And he said, Bring me a new cruse, and put salt therein. And they brought it to him. %%% N'ayogera nti Mundeetere akasumbi akaggya, muteeke omwo omunnyo. Ne bakaleeta gy'ali. 12K2I002.021 And he went forth unto the spring of the waters, and cast the salt in there, and said, Thus saith the LORD, I have healed these waters; there shall not be from thence any more death or barren land. %%% N'afuluma n'ajja awali ensulo y'amazzi, n'asuula omwo omunnyo n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mponyezza amazzi gano; temukyavaamu nate lumbe newakubadde obutakuza mmere. 12K2I002.022 So the waters were healed unto this day, according to the saying of Elisha which he spake. %%% Awo amazzi ne gawona ne leero ng'ekigambo bwe kyali ekya Erisa kye yayogera. 12K2I002.023 And he went up from thence unto Bethel: and as he was going up by the way, there came forth little children out of the city, and mocked him, and said unto him, Go up, thou bald head; go up, thou bald head. %%% Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata. 12K2I002.024 And he turned back, and looked on them, and cursed them in the name of the LORD. And there came forth two she bears out of the wood, and tare forty and two children of them. %%% N'akebuka n'abalaba n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Eddubu bbiri enkazi ne ziva mu kibira ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo. 12K2I002.025 And he went from thence to mount Carmel, and from thence he returned to Samaria. %%% Awo n'avaayo n'agenda eri olusozi Kalumeeri, n'avaayo n'akomawo e Samaliya. 12K2I003.001 Now Jehoram the son of Ahab began to reign over Israel in Samaria the eighteenth year of Jehoshaphat king of Judah, and reigned twelve years. %%% Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi mu munaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri. 12K2I003.002 And he wrought evil in the sight of the LORD; but not like his father, and like his mother: for he put away the image of Baal that his father had made. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; naye obutafaanana kitaawe n'okufaanana nnyina: kubanga yaggyawo empagi ya Baali kitaawe gye yakola. 12K2I003.003 Nevertheless he cleaved unto the sins of Jeroboam the son of Nebat, which made Israel to sin; he departed not therefrom. %%% Naye ne yeegatta n'ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivaamu. 12K2I003.004 And Mesha king of Moab was a sheepmaster, and rendered unto the king of Israel an hundred thousand lambs, and an hundred thousand rams, with the wool. %%% Era Mesa kabaka wa Mowaabu yali musumba wa ndiga; n'awangayo eri kabaka wa Isiraeri ebyoya by'abaana b'endiga kasiriivu n'eby'endiga ennume kasiriivu. 12K2I003.005 But it came to pass, when Ahab was dead, that the king of Moab rebelled against the king of Israel. %%% Naye olwatuuka Akabu bwe yafa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Isiraeri. 12K2I003.006 And king Jehoram went out of Samaria the same time, and numbered all Israel. %%% Kabaka Yekolaamu n'ava mu Samaliya mu biro ebyo, n'ayolesa Isiraeri yenna. 12K2I003.007 And he went and sent to Jehoshaphat the king of Judah, saying, The king of Moab hath rebelled against me: wilt thou go with me against Moab to battle? And he said, I will go up: I am as thou art, my people as thy people, and my horses as thy horses. %%% Awo n'agenda n'atumira Yekosafaati kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Kabaka wa Mowaabu anjeemedde: onootabaala Mowaabu wamu nange? N'ayogera nti Naayambuka: nze nninga ggwe bw'oli, abantu bange ng'abantu bo, embalaasi zange ng'embalaasi zo. 12K2I003.008 And he said, Which way shall we go up? And he answered, The way through the wilderness of Edom. %%% N'ayogera nti Tunaayambuka mu kkubo ki? N'addamu nti Mu kkubo ery'omu ddungu erya Edomu. 12K2I003.009 So the king of Israel went, and the king of Judah, and the king of Edom: and they fetched a compass of seven days' journey: and there was no water for the host, and for the cattle that followed them. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu: ne beetooloola olugendo lwa nnaku musanvu: so nga tewaali mazzi ga ggye newakubadde ag'ensolo ez'abagoberera. 12K2I003.010 And the king of Israel said, Alas! that the LORD hath called these three kings together, to deliver them into the hand of Moab! %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Zitusanze! kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu. 12K2I003.011 But Jehoshaphat said, Is there not here a prophet of the LORD, that we may enquire of the LORD by him? And one of the king of Israel's servants answered and said, Here is Elisha the son of Shaphat, which poured water on the hands of Elijah. %%% Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nnabbi wa Mukama tubuulize mu ye eri Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Erisa mutabani wa Safati wano eyafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya. 12K2I003.012 And Jehoshaphat said, The word of the LORD is with him. So the king of Israel and Jehoshaphat and the king of Edom went down to him. %%% Awo Yekosafaati n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kiri naye. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy'ali. 12K2I003.013 And Elisha said unto the king of Israel, What have I to do with thee? get thee to the prophets of thy father, and to the prophets of thy mother. And the king of Israel said unto him, Nay: for the LORD hath called these three kings together, to deliver them into the hand of Moab. %%% Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nfaayo ki eri ggwe? genda eri bannabbi ba kitaawo n'eri bannabbi ba nnyoko. Kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Nedda: kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu. 12K2I003.014 And Elisha said, As the LORD of hosts liveth, before whom I stand, surely, were it not that I regard the presence of Jehoshaphat the king of Judah, I would not look toward thee, nor see thee. %%% Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, mazima singa sirowooza Yekosafaati kabaka wa Yuda okubaawo, sandikutunuulidde so sandikulabye. 12K2I003.015 But now bring me a minstrel. And it came to pass, when the minstrel played, that the hand of the LORD came upon him. %%% Naye nno ndeetera omukubi w'ennanga. Awo olwatuuka omukubi w'ennanga bwe yakuba, omukono gwa Mukama ne gumujjako. 12K2I003.016 And he said, Thus saith the LORD, Make this valley full of ditches. %%% N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mujjuze ekiwonvu kino ensalosalo. 12K2I003.017 For thus saith the LORD, Ye shall not see wind, neither shall ye see rain; yet that valley shall be filled with water, that ye may drink, both ye, and your cattle, and your beasts. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temuulabe mbuyaga so temuulabe nkuba, naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi: nammwe munaanywa, mmwe n'ebisibo byammwe n'ensolo zammwe. 12K2I003.018 And this is but a light thing in the sight of the LORD: he will deliver the Moabites also into your hand. %%% Era kino kigambo kitono so si kikulu mu maaso ga Mukama: era aligabula n'Abamowaabu mu mukono gwammwe. 12K2I003.019 And ye shall smite every fenced city, and every choice city, and shall fell every good tree, and stop all wells of water, and mar every good piece of land with stones. %%% Era mulimenya buli kibuga ekiriko enkomera na buli kibuga ekironde ne mutema buli muti omulungi ne muziba enzizi zonna ez'amazzi ne mwonoona buli musiri omulungi n'amayinja. 12K2I003.020 And it came to pass in the morning, when the meat offering was offered, that, behold, there came water by the way of Edom, and the country was filled with water. %%% Awo olwatuuka enkya mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, kale, laba, amazzi ne gajja nga gafuluma mu kkubo ery'e Edomu, ensi n'ejjula amazzi. 12K2I003.021 And when all the Moabites heard that the kings were come up to fight against them, they gathered all that were able to put on armour, and upward, and stood in the border. %%% Awo Abamowaabu bonna bwe baawulira bakabaka nga bambuse okulwana nabo, ne bakuŋŋaana bonna abaayinza okwambala ebyokulwanyisa n'okukirawo, ne bayimirira ku mpero. 12K2I003.022 And they rose up early in the morning, and the sun shone upon the water, and the Moabites saw the water on the other side as red as blood: %%% Awo ne bagolokoka enkya mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi, Abamowaabu ne balaba amazzi agaboolekedde nga gamyuse ng'omusaayi: 12K2I003.023 And they said, This is blood: the kings are surely slain, and they have smitten one another: now therefore, Moab, to the spoil. %%% awo ne boogera nti Guno gwe musaayi: bakabaka tebalemye kuzikirizibwa, era basse buli muntu munne: kale nno, Mowaabu, mugwe ku munyago. 12K2I003.024 And when they came to the camp of Israel, the Israelites rose up and smote the Moabites, so that they fled before them: but they went forward smiting the Moabites, even in their country. %%% Awo bwe baatuka mu lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne bagolokoka ne bakuba Abamowaabu n'okudduka ne badduka mu maaso gaabwe: ne beeyongerayo mu nsi nga bakuba Abamowaabu. 12K2I003.025 And they beat down the cities, and on every good piece of land cast every man his stone, and filled it; and they stopped all the wells of water, and felled all the good trees: only in Kirharaseth left they the stones thereof; howbeit the slingers went about it, and smote it. %%% Ne bamenyamenya ebibuga; n'awali omusiri omulungi ogw'ettaka ne bakasuka buli muntu ejjinja lye ne wajjula; ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi okutuusa lwe baasigazaawo mu Kirukalesesi amayinja gamu gokka; naye ab'envuumuulo ne batambulatambula mu nsi ne bagikuba. 12K2I003.026 And when the king of Moab saw that the battle was too sore for him, he took with him seven hundred men that drew swords, to break through even unto the king of Edom: but they could not. %%% Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba olutalo nga lumuyingiridde, n'atwala abasajja lusanvu abaasowolanga ebitala, okuwaguza okutuuka eri kabaka w’e Edomu: naye ne batayinza. 12K2I003.027 Then he took his eldest son that should have reigned in his stead, and offered him for a burnt offering upon the wall. And there was great indignation against Israel: and they departed from him, and returned to their own land. %%% Awo n'addira mutabani we omubereberye eyandifuze mu kifo kye, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku bbugwe. Ne waba obusungu bungi eri Isiraeri: ne bamuvaako ne baddayo mu nsi yaabwe. 12K2I004.001 Now there cried a certain woman of the wives of the sons of the prophets unto Elisha, saying, Thy servant my husband is dead; and thou knowest that thy servant did fear the LORD: and the creditor is come to take unto him my two sons to be bondmen. %%% Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'ayogerera waggulu eri Erisa ng'ayogera nti Omuddu wo baze yafa: era omanyi ng’omuddu wo yatyanga Mukama: era ow'ebbanja azze okwetwalira abaana bange bombi okuba abaddu. 12K2I004.002 And Elisha said unto her, What shall I do for thee? tell me, what hast thou in the house? And she said, Thine handmaid hath not any thing in the house, save a pot of oil. %%% Erisa n'amugamba nti Naakukolera ki? mbuulira: olina ki mu nnyumba? N'ayogera nti Omuzaana wo talina kintu mu nnyumba wabula akasumbi ak'amafuta. 12K2I004.003 Then he said, Go, borrow thee vessels abroad of all thy neighbours, even empty vessels; borrow not a few. %%% Awo n'ayogera nti Genda weeyazike ebintu ebweru mu banno bonna, ebintu ebyereere; weeyazike bingiko. 12K2I004.004 And when thou art come in, thou shalt shut the door upon thee and upon thy sons, and shalt pour out into all those vessels, and thou shalt set aside that which is full. %%% Awo n'oyingira weggalire ggwe ne batabani bo, ottululire mu bintu ebyo byonna; otereke ebijjudde. 12K2I004.005 So she went from him, and shut the door upon her and upon her sons, who brought the vessels to her; and she poured out. %%% Awo n'ava w'ali ne yeggalira ye ne batabani be; ne bamuleetera ebintu n'attulula. 12K2I004.006 And it came to pass, when the vessels were full, that she said unto her son, Bring me yet a vessel. And he said unto her, There is not a vessel more. And the oil stayed. %%% Awo olwatuuka ebintu bwe byajjula n'agamba mutabani we nti Ndeetera nate ekintu. N'amugamba nti Tewakyali nate kintu. Amafuta ne gakoma. 12K2I004.007 Then she came and told the man of God. And he said, Go, sell the oil, and pay thy debt, and live thou and thy children of the rest. %%% Awo n’ajja n'abuulira omusajja wa Katonda. N'ayogera nti Genda otunde amafuta osasule ebbanja lyo, ebinaafikkawo bikuliiseaga ggwe ne batabatu bo. 12K2I004.008 And it fell on a day, that Elisha passed to Shunem, where was a great woman; and she constrained him to eat bread. And so it was, that as oft as he passed by, he turned in thither to eat bread. %%% Awo olunaku lwali lumu Erisa n'ayita n'agenda e Sunemu eyali omukazi omukulu; n'amuwaliriza okulya ku mmere. Awo olwatuukanga buli lwe yayitangawo n'akyamiranga omwo okulya ku mmere. 12K2I004.009 And she said unto her husband, Behold now, I perceive that this is an holy man of God, which passeth by us continually. %%% N'agamba bba nti Laba nno, ntegedde ng'ono musajja mutukuvu wa Katonda atuyitako buli kaseera. 12K2I004.010 Let us make a little chamber, I pray thee, on the wall; and let us set for him there a bed, and a table, and a stool, and a candlestick: and it shall be, when he cometh to us, that he shall turn in thither. %%% Nkwegayiridde tukookere ku kisenge; tumuteekere eyo ekitanda n'emmeeza n'entebe n'eky'ettabaaza: awo olunaatuukanga bw'anajjanga gye tuli anaakyamiranga omwo. 12K2I004.011 And it fell on a day, that he came thither, and he turned into the chamber, and lay there. %%% Awo olunaku lwali lumu n'ajjayo n'akyamira mu nju n'agalamira omwo. 12K2I004.012 And he said to Gehazi his servant, Call this Shunammite. And when he had called her, she stood before him. %%% N'agamba Gekazi omuddu we nti Yita Omusunammu ono. Awo bwe yamuyita n'ayimirira mu maaso ge. 12K2I004.013 And he said unto him, Say now unto her, Behold, thou hast been careful for us with all this care; what is to be done for thee? wouldest thou be spoken for to the king, or to the captain of the host? And she answered, I dwell among mine own people. %%% N'amugamba nti Mugambe nno nti Laba, watujjanjaba okujjanjaba okwenkana awo; kiki ekinaaba kikukolerwa? oyagala okwogererwa eri kabaka oba eri omukulu w'eggye? N'addamu nti Ntuula mu bantu bange nze. 12K2I004.014 And he said, What then is to be done for her? And Gehazi answered, Verily she hath no child, and her husband is old. %%% N'ayogera nti Kale kiki ekinaaba kimukolerwa? Gekazi n'addamu nti Mazima talina mwana wa bulenzi ne bba mukadde. 12K2I004.015 And he said, Call her. And when he had called her, she stood in the door. %%% N'ayogera nti Muyite. Awo bwe yamuyita n'ayimirira ku mulyango. 12K2I004.016 And he said, About this season, according to the time of life, thou shalt embrace a son. And she said, Nay, my lord, thou man of God, do not lie unto thine handmaid. %%% N'ayogera nti Mu kiseera kino ebiro bwe biridda, oliwambaatira omwana ow'obulenzi. N'ayogera nti Nedda, mukama wange, ggwe omusajja wa Katonda, tolimba muzaana wo. 12K2I004.017 And the woman conceived, and bare a son at that season that Elisha had said unto her, according to the time of life. %%% Omukazi n'aba olubuto n'azaalira omwana ow'obulenzi mu kiseera ekyo ebiro bwe byadda nga Erisa bwe yamugamba. 12K2I004.018 And when the child was grown, it fell on a day, that he went out to his father to the reapers. %%% Awo omwana bwe yakula olunaku lwali lumu n'afuluma n'agenda eri kitaawe eri abakunguzi. 12K2I004.019 And he said unto his father, My head, my head. And he said to a lad, Carry him to his mother. %%% N'agamba kitaawe nti Omutwe gwange, omutwe gwange. N'agamba omuddu we nti Musitule omutwale eri nnyina. 12K2I004.020 And when he had taken him, and brought him to his mother, he sat on her knees till noon, and then died. %%% Awo bwe yamutwala n'amutuusa eri nnyina, n'atuula ku maviivi ge okutuusa ettuntu n'alyoka afa. 12K2I004.021 And she went up, and laid him on the bed of the man of God, and shut the door upon him, and went out. %%% N'alinnya n'amugalamiza ku kitanda ky'omusajja wa Katonda, n'amuggalira oluggi n'afuluma. 12K2I004.022 And she called unto her husband, and said, Send me, I pray thee, one of the young men, and one of the asses, that I may run to the man of God, and come again. %%% N'ayita bba n'ayogera nti Nkwegayiridde, mpeereza omu ku baddu n'emu ku ndogoyi ŋŋende mbiro eri omusajja wa Katonda nkomewo. 12K2I004.023 And he said, Wherefore wilt thou go to him to day? it is neither new moon, nor sabbath. And she said, It shall be well. %%% N'ayogera nti Kiki ekikwagaza okugenda gy'ali leero? si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka so si ssabbiiti. N'ayogera nti Mirembe. 12K2I004.024 Then she saddled an ass, and said to her servant, Drive, and go forward; slack not thy riding for me, except I bid thee. %%% Awo n'atandiika endogoyi n'agamba omuddu we nti Goba otambule; totta ku bigere wabula nga nkugambye. 12K2I004.025 So she went and came unto the man of God to mount Carmel. And it came to pass, when the man of God saw her afar off, that he said to Gehazi his servant, Behold, yonder is that Shunammite: %%% Awo n'agenda n'atuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi Kalumeeri. Awo olwatuuka omusajja wa Katonda bwe yamulengera ng'akyali wala, n'agamba Gekazi omuddu we nti Laba, Omusunammu wuuyo: 12K2I004.026 Run now, I pray thee, to meet her, and say unto her, Is it well with thee? is it well with thy husband? is it well with the child? And she answered, It is well. %%% nkwegayiridde, dduka nno mbiro omusisinkane omugambe nti Oli bulungi? balo ali bulungi? omwana ali bulungi? N'addamu nti Bulungi. 12K2I004.027 And when she came to the man of God to the hill, she caught him by the feet: but Gehazi came near to thrust her away. And the man of God said, Let her alone; for her soul is vexed within her: and the LORD hath hid it from me, and hath not told me. %%% Awo bwe yatuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi, n'amukwata ku bigere. Gekazi n'asembera okumusindika; naye omusajja wa Katonda n'ayogera nti Muleke: kubanga emmeeme ye enyiikadde munda mu ye; era Mukama akinkisizza so tambuulidde. 12K2I004.028 Then she said, Did I desire a son of my lord? did I not say, Do not deceive me? %%% Awo n'ayogera nti Nayagala omwana ow'obulenzi eri mukama wange? saayogera nti Tonnimba? 12K2I004.029 Then he said to Gehazi, Gird up thy loins, and take my staff in thine hand, and go thy way: if thou meet any man, salute him not; and if any salute thee, answer him not again: and lay my staff upon the face of the child. %%% Awo n'agamba Gekazi nti Weesibe ekimyu oddire omuggo gwange mu mukono gwo ogende: bw'onoosanga omuntu yenna tomulamusa; era omuntu yenna bw'anaakulamusa, tomuddamu: oteeke omuggo gwange ku maaso g'omwana. 12K2I004.030 And the mother of the child said, As the LORD liveth, and as thy soul liveth, I will not leave thee. And he arose, and followed her. %%% Nnyina w'omwana n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. N'agolokoka n'amugoberera. 12K2I004.031 And Gehazi passed on before them, and laid the staff upon the face of the child; but there was neither voice, nor hearing. Wherefore he went again to meet him, and told him, saying, The child is not awaked. %%% Awo Gekazi n'ayitamu n'abakulembera n'ateeka omuggo ku maaso g'omwana; naye ne wataba ddoboozi newakubadde okuwulira. Kyeyava akomawo okumusisinkana, n'amubuulira nti Omwana tazuukuse. 12K2I004.032 And when Elisha was come into the house, behold, the child was dead, and laid upon his bed. %%% Awo Erisa bwe yayingira mu nnyumba, laba, omwana ng'afudde era ng'agalamidde ku kitanda kye. 12K2I004.033 He went in therefore, and shut the door upon them twain, and prayed unto the LORD. %%% Awo n'ayingira ne yeggalira iaye bombi n'asaba Mukama. 12K2I004.034 And he went up, and lay upon the child, and put his mouth upon his mouth, and his eyes upon his eyes, and his hands upon his hands: and he stretched himself upon the child; and the flesh of the child waxed warm. %%% N'alinnya n'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa ke n’amaaso ge ku maaso ge n'emikono gye ku mikono gye: ne yeegololera ku ye; omubiri gw'omwana ne gubuguma. 12K2I004.035 Then he returned, and walked in the house to and fro; and went up, and stretched himself upon him: and the child sneezed seven times, and the child opened his eyes. %%% Awo n'akomawo n’atambula mu nnyumba omulundi ogumu eruuyi n'omulundi ogumu eruuyi; n'alinnya ne yeegololera ku ye: omwana n'ayasimula emirundi musanvu, omwana n'azibula amaaso. 12K2I004.036 And he called Gehazi, and said, Call this Shunammite. So he called her. And when she was come in unto him, he said, Take up thy son. %%% N'ayita Gekazi n'ayogera nti Muyite Omusunammu oyo. Awo n'amuyita. Awo ng'ayingidde gy'ali n'ayogera nti Situla omwana wo. 12K2I004.037 Then she went in, and fell at his feet, and bowed herself to the ground, and took up her son, and went out. %%% Awo n'ayingira n'avuunama ku bigere bye n'akutama wansi; n'asitula omwana we n'afuluma. 12K2I004.038 And Elisha came again to Gilgal: and there was a dearth in the land; and the sons of the prophets were sitting before him: and he said unto his servant, Set on the great pot, and seethe pottage for the sons of the prophets. %%% Awo Erisa n'ajja nate e Girugaali: ne waba enjala mu nsi; abaana ba bannabbi ne batuula mu maaso ge: n'agamba omuddu we nti Teekako entamu ennene, ofumbire abaana ba bannabbi enva. 12K2I004.039 And one went out into the field to gather herbs, and found a wild vine, and gathered thereof wild gourds his lap full, and came and shred them into the pot of pottage: for they knew them not. %%% Awo omu n'afuluma n'agenda ku ttale okunoga amaboga, n'asanga omuzabbibu ogw'omu nsiko, n'anogako amaboga ag'omu nsiko n'ajjuza olugoye lwe, n'ajja n'agatyemulatyemulira mu ntamu erimu enva: kubanga tebaagamanya. 12K2I004.040 So they poured out for the men to eat. And it came to pass, as they were eating of the pottage, that they cried out, and said, O thou man of God, there is death in the pot. And they could not eat thereof. %%% Awo ne bajjulira abantu okulya. Awo olwatuuka bwe baali nga balya ku nva, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Ai omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu okufa. So tebaayinza kugiryako. 12K2I004.041 But he said, Then bring meal. And he cast it into the pot; and he said, Pour out for the people, that they may eat. And there was no harm in the pot. %%% Naye n'ayogera nti Kale muleete obutta. N'abusuula mu ntamu; n'ayogera nti Mujjulire abantu balye. Ne wataba kabi mu ntamu. 12K2I004.042 And there came a man from Baalshalisha, and brought the man of God bread of the firstfruits, twenty loaves of barley, and full ears of corn in the husk thereof. And he said, Give unto the people, that they may eat. %%% Awo omusajja n'ajja ng'ava e Baalusalisa, n'aleetera omusajja wa Katonda emmere ey'okubibereberye, emigaati egya sayiri amakumi abiri n'ebirimba eby'eŋŋaano ebibisi mu nsawo ye. N'ayogera nti Bawe abantu balye. 12K2I004.043 And his servitor said, What, should I set this before an hundred men? He said again, Give the people, that they may eat: for thus saith the LORD, They shall eat, and shall leave thereof. %%% Awo omuddu we n'ayogera nti Owa! nteeke kino mu maaso g'abasajja ekikumi? Naye n'ayogera nti Bawe abantu balye; kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Banaalya ne balemwa. 12K2I004.044 So he set it before them, and they did eat, and left thereof, according to the word of the LORD. %%% Awo n'agiteeka mu maaso gaabwe, ne balya ne balemwa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. 12K2I005.001 Now Naaman, captain of the host of the king of Syria, was a great man with his master, and honourable, because by him the LORD had given deliverance unto Syria: he was also a mighty man in valour, but he was a leper. %%% Awo Naamani omukulu w'eggye lya kabaka w'e Busuuli yali musajja mukulu eri mukama we era wa kitiibwa, kubanga ku bw'oyo Mukama yali awadde Obusuuli okuwangula: era yali musajja wa maanyi muzira, naye yali mugenge. 12K2I005.002 And the Syrians had gone out by companies, and had brought away captive out of the land of Israel a little maid; and she waited on Naaman's wife. %%% Awo Abasuuli baali batabadde bibiina, ne banyaga ne baggya mu nsi ya Isiraeri omuwala omuto; awo n'aweerezanga muka Naamani. 12K2I005.003 And she said unto her mistress, Would God my lord were with the prophet that is in Samaria! for he would recover him of his leprosy. %%% Awo n'agamba mugole we nti Singa mukama wange ali ne nnabbi ali mu Samaliya! kale yandiwonye ebigenge bye. 12K2I005.004 And one went in, and told his lord, saying, Thus and thus said the maid that is of the land of Israel. %%% Awo ne waba ayingira n'abuulira mukama we nti Bw'ati bw'ati bw'ayogedde omuwala ow'omu nsi ya Isiraeri. 12K2I005.005 And the king of Syria said, Go to, go, and I will send a letter unto the king of Israel. And he departed, and took with him ten talents of silver, and six thousand pieces of gold, and ten changes of raiment. %%% Awo kabaka w'e Busuuli n'ayogera nti Kale nno naaweereza kabaka wa Isiraeri ebbaluwa. N'agenda n'atwala talanta kkumi eza ffeeza n'ebitundu kakaaga ebya zaabu n'emiteeko gy'ebyambalo kkumi. 12K2I005.006 And he brought the letter to the king of Israel, saying, Now when this letter is come unto thee, behold, I have therewith sent Naaman my servant to thee, that thou mayest recover him of his leprosy. %%% N'aleetera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng'ayogera nti Kale nno ebbaluwa eno bw'eriba ng'etuuse gy'oli, laba, nkutumidde Naamani omuddu wange omuwonye ebigenge bye. 12K2I005.007 And it came to pass, when the king of Israel had read the letter, that he rent his clothes, and said, Am I God, to kill and to make alive, that this man doth send unto me to recover a man of his leprosy? wherefore consider, I pray you, and see how he seeketh a quarrel against me. %%% Awo olwatuuka kabaka wa Isiraeri bwe yasoma ebbaluwa, n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Nze Katonda nzite era nnamye, omusajja ono n'okutuma n'antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? naye mulowooze, mbeegayiridde, mutegeere bw'anoonya ky'anannanga okuyomba nange. 12K2I005.008 And it was so, when Elisha the man of God had heard that the king of Israel had rent his clothes, that he sent to the king, saying, Wherefore hast thou rent thy clothes? let him come now to me, and he shall know that there is a prophet in Israel. %%% Awo olwatuuka Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Isiraeri ayuzizza ebyambalo bye n'atumira kabaka ng'ayogera nti Lwaki okuyuza ebyambalo byo? ajje nno gye ndi, kale anaamanya nga mu Isiraeri mulimu nnabbi. 12K2I005.009 So Naaman came with his horses and with his chariot, and stood at the door of the house of Elisha. %%% Awo Naamani n'ajja n'embalaasi ze n'amagaali ge, n'ayimirira ku luggi lw'ennyumba ya Erisa. 12K2I005.010 And Elisha sent a messenger unto him, saying, Go and wash in Jordan seven times, and thy flesh shall come again to thee, and thou shalt be clean. %%% Erisa n'amutumira omubaka ng'ayogera nti Genda onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, kale omubiri gwo gulidda gy'oli, naawe oliba mulongoofu. 12K2I005.011 But Naaman was wroth, and went away, and said, Behold, I thought, He will surely come out to me, and stand, and call on the name of the LORD his God, and strike his hand over the place, and recover the leper. %%% Naye Naamani n'asunguwala, ne yeddirayo n'ayogera nti Laba, mbadde ŋŋamba nti taaleme kufuluma gye ndi n'ayimirira n'asaba erinnya lya Mukama Katonda we n'ayisayisa engalo awali ekifo, n'awonya omugenge. 12K2I005.012 Are not Abana and Pharpar, rivers of Damascus, better than all the waters of Israel? may I not wash in them, and be clean? So he turned and went away in a rage. %%% Abana ne Falufali emigga egy'e Ddamasiko tegisinga bulungi mazzi gonna aga Isiraeri? siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu? Awo n'akyuka n'agenda ng'aliko ekiruyi. 12K2I005.013 And his servants came near, and spake unto him, and said, My father, if the prophet had bid thee do some great thing, wouldest thou not have done it? how much rather then, when he saith to thee, Wash, and be clean? %%% Awo abaddu be ne basembera ne boogera naye nti Kitange, nnabbi singa akulagidde okukola ekigambo ekikulu, tewandikikoze? kale toosinge nnyo bw'akugambye nti Naaba obe mulongoofu? 12K2I005.014 Then went he down, and dipped himself seven times in Jordan, according to the saying of the man of God: and his flesh came again like unto the flesh of a little child, and he was clean. %%% Awo n'aserengeta ne yennyika mu Yoludaani emirundi musanvu ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: omubiri gwe ne gudda nate ng'omubiri gw'omwana omuto, n’aba mulongoofu. 12K2I005.015 And he returned to the man of God, he and all his company, and came, and stood before him: and he said, Behold, now I know that there is no God in all the earth, but in Israel: now therefore, I pray thee, take a blessing of thy servant. %%% Awo n'addayo eri omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ajja n'ayimirira mu maaso ge: n'ayogera nti Laba nno ntegedde nga tewali Katonda mu nsi zonna wabula mu Isiraeri: kale nno, nkwegayiridde, toola ekirabo ku muddu wo. 12K2I005.016 But he said, As the LORD liveth, before whom I stand, I will receive none. And he urged him to take it; but he refused. %%% Naye n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, siitoole kyonna. N'amutayirira okukitoola; naye n'agaana. 12K2I005.017 And Naaman said, Shall there not then, I pray thee, be given to thy servant two mules' burden of earth? for thy servant will henceforth offer neither burnt offering nor sacrifice unto other gods, but unto the LORD. %%% Awo Naamani n'ayogera nti Oba tootoole, naye nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eryetikkibwa n'ennyumbu bbiri; kubanga omuddu wo takyawaayo okuva leero ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka eri bakatonda abalala wabula eri Mukama. 12K2I005.018 In this thing the LORD pardon thy servant, that when my master goeth into the house of Rimmon to worship there, and he leaneth on my hand, and I bow myself in the house of Rimmon: when I bow down myself in the house of Rimmon, the LORD pardon thy servant in this thing. %%% Mukama asonyiwe omuddu wo mu kigambo kino; mukama wange bw'anaayingiranga mu kigwa kya Limmoni okusinzizaayo ne yeesigama ku mukono gwange ne nkutama mu kigwa kya Limmoni, bwe nnaakutamanga mu kigwa kya Limmoni, Mukama asonyiwenga omuddu wo mu kigambo ekyo. 12K2I005.019 And he said unto him, Go in peace. So he departed from him a little way. %%% N'amugamba nti Genda mirembe. Awo ne baawukana n'atambulako akabanga. 12K2I005.020 But Gehazi, the servant of Elisha the man of God, said, Behold, my master hath spared Naaman this Syrian, in not receiving at his hands that which he brought: but, as the LORD liveth, I will run after him, and take somewhat of him. %%% Naye Gekazi omuddu wa Erisa omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, mukama wange asonyiye Naamani ono Omusuuli okutoola mu mikono gye ekyo kye yaleeta: nga Mukama bw'ali omulamu, nadduka ne mmugoberera mbeereko kye nnaamuggyako. 12K2I005.021 So Gehazi followed after Naaman. And when Naaman saw him running after him, he lighted down from the chariot to meet him, and said, Is all well? %%% Awo Gekazi n'agoberera Naamani. A'wo Naamani bwe yalaba amugoberera, n'ava ku ggaali okumusisinkana, n'ayogera nti Mirembe? 12K2I005.022 And he said, All is well. My master hath sent me, saying, Behold, even now there be come to me from mount Ephraim two young men of the sons of the prophets: give them, I pray thee, a talent of silver, and two changes of garments. %%% N'ayogera nti Mirembe. Mukama wange antumye ng'ayogera nti Laba, kaakano kyebajje bajje gye ndi nga bava mu nsi y'ensozi eya Efulayimu abalenzi babiri ab'oku baana ba bannabbi; nkwegayiridde, bawe talanta ya ffeeza n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri. 12K2I005.023 And Naaman said, Be content, take two talents. And he urged him, and bound two talents of silver in two bags, with two changes of garments, and laid them upon two of his servants; and they bare them before him. %%% Awo Naamani n'ayogera nti Kkiriza, otoole talanta bbiri. N'amutayirira, n'asiba talanta bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri wamu n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri, n'abitikka abaddu be babiri: ne bazetikkira mu maaso ge. 12K2I005.024 And when he came to the tower, he took them from their hand, and bestowed them in the house: and he let the men go, and they departed. %%% Awo bwe yatuuka ku lusozi, n'abiggya mu mukono gwabwe n'abitereka mu nnyumba: n'asindika abasajja ne baddayo. 12K2I005.025 But he went in, and stood before his master. And Elisha said unto him, Whence comest thou, Gehazi? And he said, Thy servant went no whither. %%% Naye n'ayingira n'ayimirira mu maaso ga mukama we. Erisa n'amugamba nti Ova wa, Gekazi? N'ayogera nti Omuddu wo taliiko gy'agenze. 12K2I005.026 And he said unto him, Went not mine heart with thee, when the man turned again from his chariot to meet thee? Is it a time to receive money, and to receive garments, and oliveyards, and vineyards, and sheep, and oxen, and menservants, and maidservants? %%% N'amugamba nti Omutima gwange tegugenze naawe, omusajja bw'akyuse okuva mu ggaali lye okusisinkana naawe? Kye kiseera okutoola ffeeza n'okutoola ebyambalo n'ensuku z'emizeyituuni n'ensuku z'emizabbibu n'endiga n'ente n'abaddu n'abazaana? 12K2I005.027 The leprosy therefore of Naaman shall cleave unto thee, and unto thy seed for ever. And he went out from his presence a leper as white as snow. %%% Kale ebigenge bya Naamani bineegatta naawe n'ezzadde lyo emirembe gyonna. N'ava w'ali nga mugenge atukula ng'omuzira. 12K2I006.001 And the sons of the prophets said unto Elisha, Behold now, the place where we dwell with thee is too strait for us. %%% Awo abaana ba bannabbi ne bagamba Erisa nti Laba nno ekifo kye tubeeramu mu maaso go kituyinze obutono. 12K2I006.002 Let us go, we pray thee, unto Jordan, and take thence every man a beam, and let us make us a place there, where we may dwell. And he answered, Go ye. %%% Tukwegayiridde tugende ku Yoludaani tuggyeyo buli muntu omuti, twekolere eyo ekifo eky'okubeeramu. N'adamu nti Mugende. 12K2I006.003 And one said, Be content, I pray thee, and go with thy servants. And he answered, I will go. %%% Awo ne waba ayogera nti Nkwegayiridde, kkiriza ogende n'abaddu bo. N'addamu nti Naagenda. 12K2I006.004 So he went with them. And when they came to Jordan, they cut down wood. %%% Awo n'agenda nabo. Awo bwe baatuuka ku Yoludaani, ne batema emiti. 12K2I006.005 But as one was felling a beam, the axe head fell into the water: and he cried, and said, Alas, master! for it was borrowed. %%% Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba n'ayogera nti Zinsanze, mukama wange! kubanga ebadde nneeyazike. 12K2I006.006 And the man of God said, Where fell it? And he shewed him the place. And he cut down a stick, and cast it in thither; and the iron did swim. %%% Omusajja wa Katonda n'ayogera nti Egudde wa? N'amulaga ekifo. N'atema omuti n'agusuulawo n'abbulukusa ekyuma. 12K2I006.007 Therefore said he, Take it up to thee. And he put out his hand, and took it. %%% N'ayogera nti Gironde. N'agolola omukono gwe n'agikwata. 12K2I006.008 Then the king of Syria warred against Israel, and took counsel with his servants, saying, In such and such a place shall be my camp. %%% Awo kabaka w’e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesa n'abaddu be ng'ayogera nti Egindi ye eriba olusiisira lwange. 12K2I006.009 And the man of God sent unto the king of Israel, saying, Beware that thou pass not such a place; for thither the Syrians are come down. %%% Omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Weekuume oleme okuyita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye baserengese. 12K2I006.010 And the king of Israel sent to the place which the man of God told him and warned him of, and saved himself there, not once nor twice. %%% Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusajja wa Katonda ky'amubuulidde ng'amulabula: n'awonera eyo omulundi si gumu so si ebiri. 12K2I006.011 Therefore the heart of the king of Syria was sore troubled for this thing; and he called his servants, and said unto them, Will ye not shew me which of us is for the king of Israel? %%% Awo omutima gwa kabaka w'e Busuuli ne gweraliikirira nnyo olw'ekigambo ekyo; n'ayita abaddu be n'abagamba nti Temuntegeeze bw'ali ku ffe ali ku lwa kabaka wa Isiraeri? 12K2I006.012 And one of his servants said, None, my lord, O king: but Elisha, the prophet that is in Israel, telleth the king of Israel the words that thou speakest in thy bedchamber. %%% Omu ku baddu be n'ayogera nti Nedda, mukama wange, ai kabaka; naye Erisa nnabbi ali mu Isiraeri ye abuulira kabaka wa Isiraeri ebigambo by'oyogerera mu nju yo gy'osulamu. 12K2I006.013 And he said, Go and spy where he is, that I may send and fetch him. And it was told him, saying, Behold, he is in Dothan. %%% N'ayogera nti Mugende mulabe gy'ali, ntume mmukime. Ne bamubuulira nti Laba, ali mu Dosani. 12K2I006.014 Therefore sent he thither horses, and chariots, and a great host: and they came by night, and compassed the city about. %%% Awo n'atumayo embalaasi n'amagaali n'eggye lingi: ne bajja ekiro ne bazingiza ekibuga. 12K2I006.015 And when the servant of the man of God was risen early, and gone forth, behold, an host compassed the city both with horses and chariots. And his servant said unto him, Alas, my master! how shall we do? %%% Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. omuddu we n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya? 12K2I006.016 And he answered, Fear not: for they that be with us are more than they that be with them. %%% N'addamu nti Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo. 12K2I006.017 And Elisha prayed, and said, LORD, I pray thee, open his eyes, that he may see. And the LORD opened the eyes of the young man; and he saw: and, behold, the mountain was full of horses and chariots of fire round about Elisha. %%% Erisa n'asaba n’ayogera nti Mukama wange, nkwegayiridde, omuzibule amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba: awo; laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa. 12K2I006.018 And when they came down to him, Elisha prayed unto the LORD, and said, Smite this people, I pray thee, with blindness. And he smote them with blindness according to the word of Elisha. %%% Awo bwe baaserengeta gy'ali Erisa n'asaba Mukama n'ayogera nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali. 12K2I006.019 And Elisha said unto them, This is not the way, neither is this the city: follow me, and I will bring you to the man whom ye seek. But he led them to Samaria. %%% Erisa n'abagamba nti Lino si lye kkubo so ne kino si kye kibuga: mungoberere nange n'abatuusa eri omusajja gwe munoonya. N'abatwala e Samaliya. 12K2I006.020 And it came to pass, when they were come into Samaria, that Elisha said, LORD, open the eyes of these men, that they may see. And the LORD opened their eyes, and they saw; and, behold, they were in the midst of Samaria. %%% Awo alwatuuka bwe baatuuka mu Samaliya, Erisa n'ayogera nti Mukam: wange, zibula amaaso g'abantu bani balabe. Awo Mukama n'azibul amaaso gaabwe ne balaba; kale laba, nga bah mu Samaliya wakati 12K2I006.021 And the king of Israel said unto Elisha, when he saw them, My father, shall I smite them? shall I smite them? %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Erisa bwe yabalaba nti Kitange mbakube? mbakube? 12K2I006.022 And he answered, Thou shalt not smite them: wouldest thou smite those whom thou hast taken captive with thy sword and with thy bow? set bread and water before them, that they may eat and drink, and go to their master. %%% N'addamu nti Tobakuba: oyagala okukuba abo b'owambye n'ekitala kyo n'omutego gwo? teeka emmere n'amazzi mu maaso gaabwe balye banywe badde eri mukama waabwe. 12K2I006.023 And he prepared great provision for them: and when they had eaten and drunk, he sent them away, and they went to their master. So the bands of Syria came no more into the land of Israel. %%% N'abateekerateekera bingi: awo bwe baamala okulya n'okunywa n'abasindika ne bagenda eri mukama waabwe. Awo ebibiina eby'e Busuuli nga tebikyajja nate mu nsi ya Isiraeri. 12K2I006.024 And it came to pass after this, that Benhadad king of Syria gathered all his host, and went up, and besieged Samaria. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'ayambuka n'azingiza Samaliya. 12K2I006.025 And there was a great famine in Samaria: and, behold, they besieged it, until an ass's head was sold for fourscore pieces of silver, and the fourth part of a cab of dove's dung for five pieces of silver. %%% Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nnyingi: kale, laba ne bakizingiza okutuusa lwe baatunda omutwe gw'endogoyi olw'ebitundu eby'effeeza kinaana, n'ekitundu eky'okuna eky'ekibya eky'obusa bw'amayiba nga babutunda olw'ebitundu by'effeeza bitaano. 12K2I006.026 And as the king of Israel was passing by upon the wall, there cried a woman unto him, saying, Help, my lord, O king. %%% Awo kabaka wa Isiraeri bwe yali ng'ayitawo ku bbugwe, omukazi n'amukaabirira ng'ayogera nti Mbeera, mukama wange, ai kabaka. 12K2I006.027 And he said, If the LORD do not help thee, whence shall I help thee? out of the barnfloor, or out of the winepress? %%% N'ayogera nti Mukama bw'ataakuyambe, nze naggya wa eby'okukuyamba? mu gguuliro nantiki mu ssogolero? 12K2I006.028 And the king said unto her, What aileth thee? And she answered, This woman said unto me, Give thy son, that we may eat him to day, and we will eat my son to morrow. %%% Kabaka n'amugamba nti Obadde ki? N'addamu nti Omukazi ono yaŋŋamba nti Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye leero era tunaalya omwana wange ow'obulenzi enkya. 12K2I006.029 So we boiled my son, and did eat him: and I said unto her on the next day, Give thy son, that we may eat him: and she hath hid her son. %%% Awo ne tufumba omwana wange ne tumulya ne mmugamba ku lunaku olw'okubiri nti Waayo omwana wo tumulye naye omwana we amukwese. 12K2I006.030 And it came to pass, when the king heard the words of the woman, that he rent his clothes; and he passed by upon the wall, and the people looked, and, behold, he had sackcloth within upon his flesh. %%% Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi n'ayuza ebyambalo bye; (era yali ng'ayitawo ku bbugwe;) abantu ne batunula, kale, laba, ng'ayambadde ebibukutu munda ku mubiri gwe. 12K2I006.031 Then he said, God do so and more also to me, if the head of Elisha the son of Shaphat shall stand on him this day. %%% Awo n'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabera ku ye leero. 12K2I006.032 But Elisha sat in his house, and the elders sat with him; and the king sent a man from before him: but ere the messenger came to him, he said to the elders, See ye how this son of a murderer hath sent to take away mine head? look, when the messenger cometh, shut the door, and hold him fast at the door: is not the sound of his master's feet behind him? %%% Naye Erisa n'atuula mu nnyumba ye n'abakadde ne batuula naye; kabaka n'atuma omusajja okuva gy'ali: naye omubaka nga tannatuuka gy'ali n'agamba abakadde nti Mulabye ono omwana w'omussi bw'atumye okunziyako omutwe? kale omubaka bw'anajja, muggaleewo oluggi munyigirize oluggi ku ye: enswagiro z'ebigere bya mukama we teziri nnyuma we? 12K2I006.033 And while he yet talked with them, behold, the messenger came down unto him: and he said, Behold, this evil is of the LORD; what should I wait for the LORD any longer? %%% Awo ng'akyayogera nabo, laba, omubaka n'aserengeta gy'ali: n'ayogera nti Laba, akabi kano kavudde eri Mukama; kiki ekinaaba kinnindiriza nate Mukama? 12K2I007.001 Then Elisha said, Hear ye the word of the LORD; Thus saith the LORD, To morrow about this time shall a measure of fine flour be sold for a shekel, and two measures of barley for a shekel, in the gate of Samaria. %%% Awo Erisa n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya Mukama: bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Enkya bwe bunaaba nga kampegaano ekigero ky'obutta obulungi kiritundibwa sekeri, n'ebigero bibiri ebya sayiri sekeri mu wankaaki w'e Samaliya. 12K2I007.002 Then a lord on whose hand the king leaned answered the man of God, and said, Behold, if the LORD would make windows in heaven, might this thing be? And he said, Behold, thou shalt see it with thine eyes, but shalt not eat thereof. %%% Awo omwami kabaka gwe yeesigamanga ku mukono gwe n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyo kyandiyinzise okubaawo? N'ayogera nti Laba, olikiraba n'amaaso go, naye toliryako. 12K2I007.003 And there were four leprous men at the entering in of the gate: and they said one to another, Why sit we here until we die? %%% Awo waaliwo abasajja bana abagenge awayingirirwa mu wankaaki: ne bagambagana nti Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tulifa? 12K2I007.004 If we say, We will enter into the city, then the famine is in the city, and we shall die there: and if we sit still here, we die also. Now therefore come, and let us fall unto the host of the Syrians: if they save us alive, we shall live; and if they kill us, we shall but die. %%% Oba nga tunaagamba nti Tunaayingira mu kibuga, kale enjala ng'eri mu kibuga, kale tunaafiira omwo: era oba nga tunaatuula wano butuuzi, era tunaafa. Kale nno mujje tusenge eggye ly'Abasuuli: bwe banaatuwonya nga balamu, kale tuliba balamu; era bwe banaatutta, tunaamala gafa. 12K2I007.005 And they rose up in the twilight, to go unto the camp of the Syrians: and when they were come to the uttermost part of the camp of Syria, behold, there was no man there. %%% Awo ne bagolokoka ekiro okugenda mu lusiisira olw'Abasuuli: awo bwe baatuuka ku lusiisira olw'Abasuuli we lukoma, laba, nga teriiyo muntu. 12K2I007.006 For the LORD had made the host of the Syrians to hear a noise of chariots, and a noise of horses, even the noise of a great host: and they said one to another, Lo, the king of Israel hath hired against us the kings of the Hittites, and the kings of the Egyptians, to come upon us. %%% Kubanga Mukama yali awulizizza eggye ly'Abasuuli eddoboozi ly'amagaali n'eddoboozi ly'embalaasi, eddoboozi ly'eggye eringi: ne bagambagana nti Laba, kabaka wa Isiraeri atuweereddeko bakabaka b'Abakiiti ne bakabaka b'Abamisiri okututabaala. 12K2I007.007 Wherefore they arose and fled in the twilight, and left their tents, and their horses, and their asses, even the camp as it was, and fled for their life. %%% Awo ne bagolokoka ne badduka kiro, ne baleka eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, olusiisira nga bwe lwali, ne badduka olw'obulamu bwabwe. 12K2I007.008 And when these lepers came to the uttermost part of the camp, they went into one tent, and did eat and drink, and carried thence silver, and gold, and raiment, and went and hid it; and came again, and entered into another tent, and carried thence also, and went and hid it. %%% Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira we lukoma, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa; ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka. 12K2I007.009 Then they said one to another, We do not well: this day is a day of good tidings, and we hold our peace: if we tarry till the morning light, some mischief will come upon us: now therefore come, that we may go and tell the king's household. %%% Awo ne bagambagana nti Tetukola bulungi: leero lunaku lwa bigambo birungi naffe tusirika: bwe tunaalindirira obudde ne bukya, tunajjirwa okubonerezebwa: kale nno mujje tugende tubuulire ab'omu nnyumba ya kabaka. 12K2I007.010 So they came and called unto the porter of the city: and they told them, saying, We came to the camp of the Syrians, and, behold, there was no man there, neither voice of man, but horses tied, and asses tied, and the tents as they were. %%% Awo ne bajja ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bababuulira nti Twatuuse mu lusiisira lw'Abasuuli, kale, laba, nga temuli muntu newakubadde eddoboozi ly'omuntu, naye embalaasi nga zisibiddwa n'eadogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga bwe zaali. 12K2I007.011 And he called the porters; and they told it to the king's house within. %%% Awo n'ayita abaggazi; ne babuulira ab'omu nnyumba ya kabaka munda. 12K2I007.012 And the king arose in the night, and said unto his servants, I will now shew you what the Syrians have done to us. They know that we be hungry; therefore are they gone out of the camp to hide themselves in the field, saying, When they come out of the city, we shall catch them alive, and get into the city. %%% Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano naabategeeza Abasuuli kye batukoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga. 12K2I007.013 And one of his servants answered and said, Let some take, I pray thee, five of the horses that remain, which are left in the city, (behold, they are as all the multitude of Israel that are left in it: behold, I say, they are even as all the multitude of the Israelites that are consumed:) and let us send and see. %%% Awo omu ku baddu be n'addamu n'ayogera nti Batwale ku mbalaasi ezisigadde ettaano, nkwegayiridde, ezisigadde mu kibuga, (laba, ziri ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ekisigadde mu kyo; laba, ziri ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ekimaliddwawo:) tutume tulabe. 12K2I007.014 They took therefore two chariot horses; and the king sent after the host of the Syrians, saying, Go and see. %%% Awo ne batwala amagaali abiri n'embalaasi; kabaka n'atuma okugoberera eggye ly'Abasuuli ng'ayogera nti Mugende mulabe. 12K2I007.015 And they went after them unto Jordan: and, lo, all the way was full of garments and vessels, which the Syrians had cast away in their haste. And the messengers returned, and told the king. %%% Ne babagoberera okutuuka ku Yoludaani: kale, laba, ekkubo lyonna nga lijjudde ebyambalo n'ebintu Abasuuli bye basudde nga banguwa. Ababaka ne bakomawo ne babuulira kabaka. 12K2I007.016 And the people went out, and spoiled the tents of the Syrians. So a measure of fine flour was sold for a shekel, and two measures of barley for a shekel, according to the word of the LORD. %%% Awo abantu ne bafuluma ne banyaga olusiisira olw'Abasuuli. Awo ekigero ky'obutta obulungi ne babutunda sekeri, n’ebigero ebya sayiri bibiri sekeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. 12K2I007.017 And the king appointed the lord on whose hand he leaned to have the charge of the gate: and the people trode upon him in the gate, and he died, as the man of God had said, who spake when the king came down to him. %%% Awo kabaka n'assaawo omwami gwe yeesigamanga ku mukono gwe okulabirira wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra mu mulyango n'afa ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba eyayogera kabaka bwe yaserengeta gy'ali. 12K2I007.018 And it came to pass as the man of God had spoken to the king, saying, Two measures of barley for a shekel, and a measure of fine flour for a shekel, shall be to morrow about this time in the gate of Samaria: %%% Awo ne kituukirira ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti Ebigero ebya sayiri bibiri bya sekeri, n'ekigero ky'obutta obulungi kya sekeri, bwe kiriba bwe kityo mu mulyango gw'e Samaliya enkya bwe buliba nga kampegaano; 12K2I007.019 And that lord answered the man of God, and said, Now, behold, if the LORD should make windows in heaven, might such a thing be? And he said, Behold, thou shalt see it with thine eyes, but shalt not eat thereof. %%% omwami oyo n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba nno, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyenkanidde awo kyandiyinzise okubaawo? n'ayogera nti Laba, olikiraba n'amaaso go, naye toliryako: 12K2I007.020 And so it fell out unto him: for the people trode upon him in the gate, and he died. %%% ne kituukirira gy'ali bwe kityo; kubanga abantu baamulinnyiririra mu mulyango n'afa. 12K2I008.001 Then spake Elisha unto the woman, whose son he had restored to life, saying, Arise, and go thou and thine household, and sojourn wheresoever thou canst sojourn: for the LORD hath called for a famine; and it shall also come upon the land seven years. %%% Era Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng'ayogera nti Golokoka ogende ggwe n'ennyumba yo obeere yonna yonna gy'oliyinza okubeera: kubanga Mukama ayise enjala; kale n'okugwa erigwira ku nsi emyaka musanvu. 12K2I008.002 And the woman arose, and did after the saying of the man of God: and she went with her household, and sojourned in the land of the Philistines seven years. %%% Awo omukazi n'agolokoka n'akola ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: n'agenda n'ennyumba ye n'abeera mu nsi y'Abafirisuuti emyaka musanvu. 12K2I008.003 And it came to pass at the seven years' end, that the woman returned out of the land of the Philistines: and she went forth to cry unto the king for her house and for her land. %%% Awo olwatuuka emyaka omusanvu bwe gyayitawo; omukazi n'akomawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'afuluma okukaabirira kabaka olw'ennyumba ye n'ekyalo kye: 12K2I008.004 And the king talked with Gehazi the servant of the man of God, saying, Tell me, I pray thee, all the great things that Elisha hath done. %%% Awo kabaka yali ng'ayogera ne Gekazi omuddu w'omusajja wa Katonda ng'agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira ebikulu byonna Erisa bye yakola. 12K2I008.005 And it came to pass, as he was telling the king how he had restored a dead body to life, that, behold, the woman, whose son he had restored to life, cried to the king for her house and for her land. And Gehazi said, My lord, O king, this is the woman, and this is her son, whom Elisha restored to life. %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'abuulira kabaka bwe yazuukiza oyo eyali afudde, laba, omukazi gwe yazuukiriza omwana we n'akaabirira kabaka olw'ennyumba ye n'ekyalo kye. Gekazi n'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, ono ye mukazi n'ono ye mwana we Erisa gwe yazuukiza. 12K2I008.006 And when the king asked the woman, she told him. So the king appointed unto her a certain officer, saying, Restore all that was hers, and all the fruits of the field since the day that she left the land, even until now. %%% Awo kabaka bwe yabuuza omukazi n'amubuulira. Awo kabaka n'amuteekako omumbowa omu ng'ayogera nti Muddize byonna ebyali ebibye n'ebibala byonna eby'ekyalo okuva ku lunaku lwe yaviiramu mu nsi okutuusa leero. 12K2I008.007 And Elisha came to Damascus; and Benhadad the king of Syria was sick; and it was told him, saying, The man of God is come hither. %%% Awo Erisa n'ajja e Ddamasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yali ng'alwadde; ne bamubuulira nti Omusajja wa Katonda azze eno. 12K2I008.008 And the king said unto Hazael, Take a present in thine hand, and go, meet the man of God, and enquire of the LORD by him, saying, Shall I recover of this disease? %%% Kabaka n'agamba Kazayeeri nti Twala ekirabo mu mukono gwo ogende osisinkane omusajja wa Katonda omubuulizeemu eri Mukama ng'oyogera nti Ndiwona endwadde eno? 12K2I008.009 So Hazael went to meet him, and took a present with him, even of every good thing of Damascus, forty camels' burden, and came and stood before him, and said, Thy son Benhadad king of Syria hath sent me to thee, saying, Shall I recover of this disease? %%% Awo Kazayeeri n'agenda okumusisinkana n'atwala ekirabo eky'oku buli kintu ekirungi eky'omu Ddamasiko, ebyetikkibwa n'eŋŋamira amakumi ana, n'ajja n'ayimirira mu maaso ge n'ayogera nti Omwana wo Benikadadi kabaka w'e Busuuli antumye gy'oli ng'ayogera nti Ndiwona endwadde eno? 12K2I008.010 And Elisha said unto him, Go, say unto him, Thou mayest certainly recover: howbeit the LORD hath shewed me that he shall surely die. %%% Erisa n'amugamba nti Genda omugambe nti Tolirema kuwona; naye Mukama antegeezezza nga talirema kufa. 12K2I008.011 And he settled his countenance stedfastly, until he was ashamed: and the man of God wept. %%% N'amwekaliriza amaaso okutuusa ensonyi lwe zaamukwata: omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga. 12K2I008.012 And Hazael said, Why weepeth my lord? And he answered, Because I know the evil that thou wilt do unto the children of Israel: their strong holds wilt thou set on fire, and their young men wilt thou slay with the sword, and wilt dash their children, and rip up their women with child. %%% Awo Kazayeeri n'ayogera nti Mukama wange akaabira ki? N'addamu nti Kubanga mmanyi obubi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omuliro, n'abalenzi baabwe olibatta n'ekitala, era olitandagira abaana baabwe abato, era olibaaga abakazi baabwe abali embuto. 12K2I008.013 And Hazael said, But what, is thy servant a dog, that he should do this great thing? And Elisha answered, The LORD hath shewed me that thou shalt be king over Syria. %%% Awo Kazayeeri n'ayogera nti Naye omuddu wo kye ki, ye mbwa obubwa, akole ekigambo ekyo ekikulu? Erisa n'addamu nti Mukama antegeezezza nga gw'oliba kabaka w'e Busuuli. 12K2I008.014 So he departed from Elisha, and came to his master; who said to him, What said Elisha to thee? And he answered, He told me that thou shouldest surely recover. %%% Awo n'ava awali Erisa n'ajja eri mukama we; n'amugamba nti Erisa yakugamba ki? N'addamu nti Yambuulira nga tolirema kuwona. 12K2I008.015 And it came to pass on the morrow, that he took a thick cloth, and dipped it in water, and spread it on his face, so that he died: and Hazael reigned in his stead. %%% Awo olwatuuka enkya n'addira eky'okwebikka n'akinnyika mu mazzi n'akiteeka ku maaso ge n'okufa n'afa: Kazayeeri n'afuga mu kifo kye. 12K2I008.016 And in the fifth year of Joram the son of Ahab king of Israel, Jehoshaphat being then king of Judah, Jehoram the son of Je hoshaphat king of Judah began to reign. %%% Awo mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga ye kabaka wa Yuda mu biro ebyo, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'atanula okufuga. 12K2I008.017 Thirty and two years old was he when he began to reign; and he reigned eight years in Jerusalem. %%% Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 12K2I008.018 And he walked in the way of the kings of Israel, as did the house of Ahab: for the daughter of Ahab was his wife: and he did evil in the sight of the LORD. %%% N'atambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. 12K2I008.019 Yet the LORD would not destroy Judah for David his servant's sake, as he promised him to give him alway a light, and to his children. %%% Naye Mukama teyayagala kuzikiriza Yuda ku lwa Dawudi omuddu we nga bwe yamusuubiza okumuwa ettabaaza olw'abaana be emirembe gyonna. 12K2I008.020 In his days Edom revolted from under the hand of Judah, and made a king over themselves. %%% Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda, ne beekolera kabaka. 12K2I008.021 So Joram went over to Zair, and all the chariots with him: and he rose by night, and smote the Edomites which compassed him about, and the captains of the chariots: and the people fled into their tents. %%% Awo Yolaamu n'asomoka n'agenda e Zayiri n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali: abantu ne baddukira mu weema zaabwe. 12K2I008.022 Yet Edom revolted from under the hand of Judah unto this day. Then Libnah revolted at the same time. %%% Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo. 12K2I008.023 And the rest of the acts of Joram, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yolaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I008.024 And Joram slept with his fathers, and was buried with his fathers in the city of David: and Ahaziah his son reigned in his stead. %%% Awo Yolaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I008.025 In the twelfth year of Joram the son of Ahab king of Israel did Ahaziah the son of Jehoram king of Judah begin to reign. %%% Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'atanula okufuga. 12K2I008.026 Two and twenty years old was Ahaziah when he began to reign; and he reigned one year in Jerusalem. And his mother's name was Athaliah, the daughter of Omri king of Israel. %%% Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli kabaka wa Isiraeri. 12K2I008.027 And he walked in the way of the house of Ahab, and did evil in the sight of the LORD, as did the house of Ahab: for he was the son in law of the house of Ahab. %%% N'atambulira mu kkubo ly'ennyumba ya Akabu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu. 12K2I008.028 And he went with Joram the son of Ahab to the war against Hazael king of Syria in Ramothgilead; and the Syrians wounded Joram. %%% N'agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu. 12K2I008.029 And king Joram went back to be healed in Jezreel of the wounds which the Syrians had given him at Ramah, when he fought against Hazael king of Syria. And Ahaziah the son of Jehoram king of Judah went down to see Joram the son of Ahab in Jezreel, because he was sick. %%% Awo kabaka Yolaamu n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde. 12K2I009.001 And Elisha the prophet called one of the children of the prophets, and said unto him, Gird up thy loins, and take this box of oil in thine hand, and go to Ramothgilead: %%% Awo Erisa nnabbi n'ayita omu ku baana ba bannabbi n'amugamba nti Weesibe ekimyu otwale eccupa eno ey'amafuta mu mukono gwo ogende e Lamosugireydi. 12K2I009.002 And when thou comest thither, look out there Jehu the son of Jehoshaphat the son of Nimshi, and go in, and make him arise up from among his brethren, and carry him to an inner chamber; %%% Kale bw'olituukayo onoonyezanga eyo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi, oyingire omugolokose ave mu baganda be, omuyingize mu kisenge eky'omunda. 12K2I009.003 Then take the box of oil, and pour it on his head, and say, Thus saith the LORD, I have anointed thee king over Israel. Then open the door, and flee, and tarry not. %%% Olyoke oddire eccupa ey'amafuta ogafuke ku mutwe gwe oyogere nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. Olyoke oggulewo oluggi odduke so tolwanga. 12K2I009.004 So the young man, even the young man the prophet, went to Ramothgilead. %%% Awo omulenzi, omulenzi nnabbi, n'agenda e Lamosugireyaadi. 12K2I009.005 And when he came, behold, the captains of the host were sitting; and he said, I have an errand to thee, O captain. And Jehu said, Unto which of all us? And he said, To thee, O captain. %%% Awo bwe yatuuka n'asanga abaami ab'omu ggye nga batudde; n'ayogera nti Ndiko kye ntumiddwa gy'oli, ggwe omwami. Yeeku n'ayogera nti Eri ani ku ffe fenna? N'ayogera nti Eri ggwe, omwami. 12K2I009.006 And he arose, and went into the house; and he poured the oil on his head, and said unto him, Thus saith the LORD God of Israel, I have anointed thee king over the people of the LORD, even over Israel. %%% N'agolokoka n'ayingira mu nnyumba; n'afuka amafuta ku mutwe gwe n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri. 12K2I009.007 And thou shalt smite the house of Ahab thy master, that I may avenge the blood of my servants the prophets, and the blood of all the servants of the LORD, at the hand of Jezebel. %%% Era olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bange bannabbi, n'omusaayi gw'abaddu bonna aba Mukama eri omukono gwa Yezeberi. 12K2I009.008 For the whole house of Ahab shall perish: and I will cut off from Ahab him that pisseth against the wall, and him that is shut up and left in Israel: %%% Kubanga ennyumba yonna eya Akabu erizikirira: era ndimalawo eri Akabu buli mwana wa bulenzi n'oyo asibiddwa n'oyo atasibiddwa mu Isiraeri: 12K2I009.009 And I will make the house of Ahab like the house of Jeroboam the son of Nebat, and like the house of Baasha the son of Ahijah: %%% Era ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng'ennyumba ya Yerobowmu mutabani wa Nebati era ng'ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya. 12K2I009.010 And the dogs shall eat Jezebel in the portion of Jezreel, and there shall be none to bury her. And he opened the door, and fled. %%% N'embwa ziririira Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri, so tewaliba wa kumuziika. N'aggulawo oluggi n'adduka. 12K2I009.011 Then Jehu came forth to the servants of his lord: and one said unto him, Is all well? wherefore came this mad fellow to thee? And he said unto them, Ye know the man, and his communication. %%% Awo Yeeku n'afuluma n'ajja eri abaddu ba mukama we: ne waba amugamba nti Mirembe? kiki ekireese gy'oli olusajja luno olulalu? N'abagamba nti Omuajja mumumanyi n'ebigambo bye bwe bibadde. 12K2I009.012 And they said, It is false; tell us now. And he said, Thus and thus spake he to me, saying, Thus saith the LORD, I have anointed thee king over Israel. %%% Ne boogera nti olimba; tubuulire nno. N'ayogera nti Bw'ati bw'ati bw'aŋŋambye nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. 12K2I009.013 Then they hasted, and took every man his garment, and put it under him on the top of the stairs, and blew with trumpets, saying, Jehu is king. %%% Awo ne banguwa ne baddira buli muntu ekyambalo kye ne bakyaliira wansi we waggulu ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere nga boogera nti Yeeku ye kabaka. 12K2I009.014 So Jehu the son of Jehoshaphat the son of Nimshi conspired against Joram. (Now Joram had kept Ramothgilead, he and all Israel, because of Hazael king of Syria. %%% Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi ne yeekobaana Yolaamu. (Era Yolaamu yali ng'akuuma Lamosugireyaadi) ye ne Isiraeri yenna, olwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli: 12K2I009.015 But king Joram was returned to be healed in Jezreel of the wounds which the Syrians had given him, when he fought with Hazael king of Syria.) And Jehu said, If it be your minds, then let none go forth nor escape out of the city to go to tell it in Jezreel. %%% naye kabaka Yolaamu yali akomyewo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumita bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli.) Awo Yeeku n'ayogera nti Oba nga bwe mwagala bwe mutyo, kale waleme okubaawo anaawona n'ava mu kibuga okugenda okukibuulira mu Yezuleeri. 12K2I009.016 So Jehu rode in a chariot, and went to Jezreel; for Joram lay there. And Ahaziah king of Judah was come down to see Joram. %%% Awo Yeeku n'atambulira mu ggaali n'agenda e Yezuleeri; kubanga Yolaamu yali agalamidde eyo. Era Akaziya kabaka wa Yuda yali aserengese okulambula Yolaamu. 12K2I009.017 And there stood a watchman on the tower in Jezreel, and he spied the company of Jehu as he came, and said, I see a company. And Joram said, Take an horseman, and send to meet them, and let him say, Is it peace? %%% Awo omukuumi yali ayimiridde ku kigo mu Yezuleeri, n'alengera ekibiina kya Yeeku ng'ajja n'ayogera nti Ndabye ekibiina. Yolaamu n'ayogera nti Ddira eyeebagala embalaasi otume okubasisinkana, ayogere nti Mirembe? 12K2I009.018 So there went one on horseback to meet him, and said, Thus saith the king, Is it peace? And Jehu said, What hast thou to do with peace? turn thee behind me. And the watchman told, saying, The messenger came to them, but he cometh not again. %%% Awo omu n'agenda nga yeebagadde embalaasi okumusisinkana n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Mirembe? Yeeku n'ayogera nti Emirembe ogifaako ki? kyuka odde ennyuma wange. Omukuumi n'abuulira ng'ayogera nti Omubaka atuuse gye bali, naye tadda. 12K2I009.019 Then he sent out a second on horseback, which came to them, and said, Thus saith the king, Is it peace? And Jehu answered, What hast thou to do with peace? turn thee behind me. %%% Awo n'atuma ow'okubiri nga yeebagadde embalaasi, n'atuuka gye baali n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Mirembe? Yeeku n'addamu nti Emirembe ogifaako ki? kyuka odde ennyuma wange. 12K2I009.020 And the watchman told, saying, He came even unto them, and cometh not again: and the driving is like the driving of Jehu the son of Nimshi; for he driveth furiously. %%% Omukuumi n'abuulira ng'ayogera nti Atuuse gye bali, so tadda: era entambula eriŋŋanga entambula ya Yeeku mutabani wa Nimusi; kubanga atambula ng'awulukuka. 12K2I009.021 And Joram said, Make ready. And his chariot was made ready. And Joram king of Israel and Ahaziah king of Judah went out, each in his chariot, and they went out against Jehu, and met him in the portion of Naboth the Jezreelite. %%% Yolaamu n'ayogera nti Muteeketeeke. Ne bateekateeka eggaali lye. Yolaamu kabaka wa Isiraeri ne Akaziya kabaka wa Yuda ne bafuluma, buli muntu mu ggaali lye, ne bafuluma okusisinkana Yeeku, ne bamusanga mu musiri gwa Nabosi Omuyezuleeri. 12K2I009.022 And it came to pass, when Joram saw Jehu, that he said, Is it peace, Jehu? And he answered, What peace, so long as the whoredoms of thy mother Jezebel and her witchcrafts are so many? %%% Awo olwatuuka Yolaamu bwe yalaba Yeeku n'ayogera nti Mirembe, Yeeku? N'addamu nti Mirembe ki, obwenzi bwa nnyoko Yezeberi n'obulogo bwe nga bukyali bungi obwenkanidde awo? 12K2I009.023 And Joram turned his hands, and fled, and said to Ahaziah, There is treachery, O Ahaziah. %%% Yolaamu n'akyusa emikono gye n'adduka n'agamba Akaziya nti O! Akaziya, waliwo olukwe. 12K2I009.024 And Jehu drew a bow with his full strength, and smote Jehoram between his arms, and the arrow went out at his heart, and he sunk down in his chariot. %%% Awo Yeeku n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna n'alasa Yolaamu wakati w'emikono gye, akasaale ne kayitamu ne kagguka awali omutima, n'agwira mu ggaali lye. 12K2I009.025 Then said Jehu to Bidkar his captain, Take up, and cast him in the portion of the field of Naboth the Jezreelite: for remember how that, when I and thou rode together after Ahab his father, the LORD laid this burden upon him; %%% Awo Yeeku n'agamba Bidukali omwami we nti Musitule omusuule mu musiri ogw'ekyalo kya Nabosi Omuyezuleeri: kubanga jjukira, nze naawe bwe twebagala, fembi nga tugoberera Akabu kitaawe, Mukama n'amuteekako omugugu guno; nti 12K2I009.026 Surely I have seen yesterday the blood of Naboth, and the blood of his sons, saith the LORD; and I will requite thee in this plat, saith the LORD. Now therefore take and cast him into the plat of ground, according to the word of the LORD. %%% Mazima nalabye jjo omusaayi gwa Nabosi n'omusaayi gw'abaana be, bw'ayogera Mukama; era ndikusasulira mu musiri guno, bw'ayogera Mukama. Kale nno musitule omusuule mu musiri ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama. 12K2I009.027 But when Ahaziah the king of Judah saw this, he fled by the way of the garden house. And Jehu followed after him, and said, Smite him also in the chariot. And they did so at the going up to Gur, which is by Ibleam. And he fled to Megiddo, and died there. %%% Naye Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba kino, n'addukira mu kkubo ery'omu nnyumba ey'olusuku. Yeeku n'amugoberera n'ayogera nti Mumuttire mu ggaali naye: ne bamuttira awalinnyirwa okugenda e Guli ekiriraanye Ibuleamu. N'addukira e Megiddo n'afiira eyo. 12K2I009.028 And his servants carried him in a chariot to Jerusalem, and buried him in his sepulchre with his fathers in the city of David. %%% Abaddu be ne bamusitulira mu ggaali ne bamutwala e Yerusaalemi, ne bamuziikira mu ntaana ye wamu ne bajjajjbe mu kibuga kya Dawudi. 12K2I009.029 And in the eleventh year of Joram the son of Ahab began Ahaziah to reign over Judah. %%% Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu Akaziya n'atanula okufuga Yuda. 12K2I009.030 And when Jehu was come to Jezreel, Jezebel heard of it; and she painted her face, and tired her head, and looked out at a window. %%% Awo Yeeku bwe yatuuka e Yezuleeri, Yezeberi n'akiwulira, n'aziga amaaso ge n'ayonja omutwe gwe n'alingiza mu ddirisa. 12K2I009.031 And as Jehu entered in at the gate, she said, Had Zimri peace, who slew his master? %%% Awo Yeeku bwe yali ng'ayingira mu mulyango, n'ayogera nti Mirembe, ggwe Zimuli, omussi wa mukama wo? 12K2I009.032 And he lifted up his face to the window, and said, Who is on my side? who? And there looked out to him two or three eunuchs. %%% N'ayimusa amaaso ge eri eddirisa n’ayogera nti Ani ali ku lwange, ani? Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza gy'ali. 12K2I009.033 And he said, Throw her down. So they threw her down: and some of her blood was sprinkled on the wall, and on the horses: and he trode her under foot. %%% N'ayogera nti Mumusuule wansi. Awo ne bamusuula wansi: omusaayi gwe ne gumansukirako ku kisenge ne ku mbalaasi, n'amulinyirira n'ebigere. 12K2I009.034 And when he was come in, he did eat and drink, and said, Go, see now this cursed woman, and bury her: for she is a king's daughter. %%% Awo bwe yayingira n'alya n'anywa; n'ayogera nti Mulabirire nno omukazi ono eyakolimirwa mumuziike: kubanga mwana wa kabaka. 12K2I009.035 And they went to bury her: but they found no more of her than the skull, and the feet, and the palms of her hands. %%% Ne bagenda okumuziika: naye ne batasangawo ku ye wabula ekiwanga n'ebigere n'ebibatu by'emikono gye. 12K2I009.036 Wherefore they came again, and told him. And he said, This is the word of the LORD, which he spake by his servant Elijah the Tishbite, saying, In the portion of Jezreel shall dogs eat the flesh of Jezebel: %%% Kyebaava bakomawo ne bamubuulira. Naye n'ayogera nti Kino kye kigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng'ayogera nti Embwa ziririira omubiri gwa Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri: 12K2I009.037 And the carcase of Jezebel shall be as dung upon the face of the field in the portion of Jezreel; so that they shall not say, This is Jezebel. %%% n'omulambo gwa Yezeberi guliba ng'obusa ku ttale mu musiri ogw'e Yezuleeri, n'okwogera ne batayogera nti Ono ye Yezeberi. 12K2I010.001 And Ahab had seventy sons in Samaria. And Jehu wrote letters, and sent to Samaria, unto the rulers of Jezreel, to the elders, and to them that brought up Ahab's children, saying, %%% Awo Akabu yalina batabani be nsanvu mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa n'atumira Samaliya eri abakulu b’e Yezuleeri, be bakadde, n'eri abo abaalera batabani ba Akabu ng'ayogera nti 12K2I010.002 Now as soon as this letter cometh to you, seeing your master's sons are with you, and there are with you chariots and horses, a fenced city also, and armour; %%% Kale nno ebbaluwa eno nga kyejje etuuke gye muli, kubanga abaana ba mukama wammwe bali nammwe, era mulina amagaali n'e mbalaasi, era n'ekibuga ekiriko enkomera n'ebyokulwanyisa; 12K2I010.003 Look even out the best and meetest of your master's sons, and set him on his father's throne, and fight for your master's house. %%% munoonye ku baana ba mukama wammwe asinga obulungi n'okusaana, mumuteeke ku ntebe ya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe. 12K2I010.004 But they were exceedingly afraid, and said, Behold, two kings stood not before him: how then shall we stand? %%% Naye ne batya nnyo ne boogera nti Laba, bakabaka abo ababiri tebaayimirira mu maaso ge: kale ffe tunaayimirira tutya? 12K2I010.005 And he that was over the house, and he that was over the city, the elders also, and the bringers up of the children, sent to Jehu, saying, We are thy servants, and will do all that thou shalt bid us; we will not make any king: do thou that which is good in thine eyes. %%% Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo abaalera abaana, ne batumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunaakola byonna by'onootulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: okolanga ekinaaba ekirungi mu maaso go. 12K2I010.006 Then he wrote a letter the second time to them, saying, If ye be mine, and if ye will hearken unto my voice, take ye the heads of the men your master's sons, and come to me to Jezreel by to morrow this time. Now the king's sons, being seventy persons, were with the great men of the city, which brought them up. %%% Awo n'abawandiikira ebbaluwa omulundi ogw'okubiri ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutwale emitwe gy'abasajja batabani ba mukama wammwe, mujje gye ndi e Yezuleeri enkya bwe buliba nga kampegaano. Awo batabani ba kabaka abantu nsanvu baali n'abakulu b'ekibuga abaabalera. 12K2I010.007 And it came to pass, when the letter came to them, that they took the king's sons, and slew seventy persons, and put their heads in baskets, and sent him them to Jezreel. %%% Awo olwatuuka ebbaluwa bwe yatuuka gye baali, ne batwala batabani ba kabaka ne babatta, abantu nsanvu, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, ne bagimuweereza e Yezuleeri. 12K2I010.008 And there came a messenger, and told him, saying, They have brought the heads of the king's sons. And he said, Lay ye them in two heaps at the entering in of the gate until the morning. %%% Omubaka n'ajja n'amubuulira nti Baleese emitwe gya batabani ba kabaka. N'ayogera nti Mugituume entuumo bbiri awayingirirwa mu wankaaki okutuusa enkya. 12K2I010.009 And it came to pass in the morning, that he went out, and stood, and said to all the people, Ye be righteous: behold, I conspired against my master, and slew him: but who slew all these? %%% Awo olwatuuka enkya n'afuluma n'ayimirira n'agamba abantu bonna nti Mmwe muli batuukirivu: laba, neekobaana mukama wange ne mmutta: naye ani asse bano bonna? 12K2I010.010 Know now that there shall fall unto the earth nothing of the word of the LORD, which the LORD spake concerning the house of Ahab: for the LORD hath done that which he spake by his servant Elijah. %%% Mutegeere nno nga ku kigambo kya Mukama tekuligwa wansi na kimu Mukama kye yayogera ku nnyumba ya Akabu: kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya. 12K2I010.011 So Jehu slew all that remained of the house of Ahab in Jezreel, and all his great men, and his kinsfolks, and his priests, until he left him none remaining. %%% Bw'atyo Yeeku n'akuba n'abo abaasigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri n'abakulu be bonna, ne baganzi be ne bakabona be okutuusa lw'ataamulekerawo n'omu eyasigala. 12K2I010.012 And he arose and departed, and came to Samaria. And as he was at the shearing house in the way, %%% Awo n'agolokoka n'agenda n'ajja e Samaliya. Awo bwe yali ali mu kkubo ku nnyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga ey'abasumba, 12K2I010.013 Jehu met with the brethren of Ahaziah king of Judah, and said, Who are ye? And they answered, We are the brethren of Ahaziah; and we go down to salute the children of the king and the children of the queen. %%% Yeeku n'asanga baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ayogera nti Mmwe muli b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abaana ba kabaka n'abaana ba nnamasole. 12K2I010.014 And he said, Take them alive. And they took them alive, and slew them at the pit of the shearing house, even two and forty men; neither left he any of them. %%% N'ayogera nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja amakumi ana mu babiri; so teyafissaawo n'omu ku bo. 12K2I010.015 And when he was departed thence, he lighted on Jehonadab the son of Rechab coming to meet him: and he saluted him, and said to him, Is thine heart right, as my heart is with thy heart? And Jehonadab answered, It is. If it be, give me thine hand. And he gave him his hand; and he took him up to him into the chariot. %%% Awo bwe yavaayo n'asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng'ajja okumusisinkana: n'amulamusa n'amugamba nti Omutima gwo mulungi ng'omutima gwange bwe guli eri omutima gwo? Yekonadabu n'addamu nti Mulungi. Oba nga mulungi, mpa omukono gwo. N'amuwa omukono gwe; n'amulinnyisa gy'ali mu ggaali. 12K2I010.016 And he said, Come with me, and see my zeal for the LORD. So they made him ride in his chariot. %%% N'ayogera nti Jjangu tugende fembi olabe obuggya bwange olwa Mukama. Awo ne bamulinnyisa mu ggaali lye: 12K2I010.017 And when he came to Samaria, he slew all that remained unto Ahab in Samaria, till he had destroyed him, according to the saying of the LORD, which he spake to Elijah. %%% Awo bwe yatuuka e Samaliya n'atta bonna absigalira Akabu mu Samaliya okutuusa lwe yamuzikiriza ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yagamba Eriya. 12K2I010.018 And Jehu gathered all the people together, and said unto them, Ahab served Baal a little; but Jehu shall serve him much. %%% Awo Yeeku n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti Akabu yaweerezanga Baali katono; naye Yeeku anmuweereza nnyo. 12K2I010.019 Now therefore call unto me all the prophets of Baal, all his servants, and all his priests; let none be wanting: for I have a great sacrifice to do to Baal; whosoever shall be wanting, he shall not live. But Jehu did it in subtilty, to the intent that he might destroy the worshippers of Baal. %%% Kale nno muyite gye ndi bannabbi bonna aba Baali, abamusinza bonna ne bakabona be bonna; waleme okubulawo n'omu: kubanga nnina ssaddaaka enkulu gye nnaaweereza Baali; buli alibulawo taliba mulamu. Naye Yeeku yakola bw'atyo ng'asala lukwe alyoke azikirize abaasinza Baali. 12K2I010.020 And Jehu said, Proclaim a solemn assembly for Baal. And they proclaimed it. %%% Awo Yeeku n'ayogera nti Mutukuze okukuŋŋaana okutukuvu eri Baali. Ne bakulangira. 12K2I010.021 And Jehu sent through all Israel: and all the worshippers of Baal came, so that there was not a man left that came not. And they came into the house of Baal; and the house of Baal was full from one end to another. %%% Awo Yeeku n'atuma okubunya Isiraeri yonna: abaasinza Baali bonna ne bajja n'okusigala n'etasigala muntu atajja. Ne bajja mu nnyunba ya Baali; ennyumba ya Baali n'ejjula okuva ku mulyango okutuuka ku buziizi. 12K2I010.022 And he said unto him that was over the vestry, Bring forth vestments for all the worshippers of Baal. And he brought them forth vestments. %%% Awo n'agamba omukulu w'ennyumba eyambalirwamu nti Fulumya ebyambalo eri bonna abasinza Baali. N'afulumya ebyambalo eri bo. 12K2I010.023 And Jehu went, and Jehonadab the son of Rechab, into the house of Baal, and said unto the worshippers of Baal, Search, and look that there be here with you none of the servants of the LORD, but the worshippers of Baal only. %%% Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu nnyumba ya Baali; n'agamba abasinza Baali nti Munoonye mulabe muleme okuba muno nammwe ku baddu ba Mukama, wabula abasinza Baali bokka. 12K2I010.024 And when they went in to offer sacrifices and burnt offerings, Jehu appointed fourscore men without, and said, If any of the men whom I have brought into your hands escape, he that letteth him go, his life shall be for the life of him. %%% Awo ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa. Era Yeeku yali ataddewo abasajja kinaana ebweru n'ayogera nti Ku basajja be nnaaleeta mu mikono gyammwe bwe kunaabulako n'omu, amuta obulamu bwe bunaaba mu kifo ky'obulamu bw'oyo. 12K2I010.025 And it came to pass, as soon as he had made an end of offering the burnt offering, that Jehu said to the guard and to the captains, Go in, and slay them; let none come forth. And they smote them with the edge of the sword; and the guard and the captains cast them out, and went to the city of the house of Baal. %%% Awo olwatuuka bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeeku n'agamba abambowa n'abaami nti Muyingire mubatte; waleme okufuluma n'omu. Ne babatta n'obwogi bw'ekitala: awo abambowa n'abaami ne babasuula ebweru ne bagenda mu kibuga eky'essabo lya Baali. 12K2I010.026 And they brought forth the images out of the house of Baal, and burned them. %%% Awo ne baggya empagi ezaali mu nnyumba ya Baali ne bazookya. 12K2I010.027 And they brake down the image of Baal, and brake down the house of Baal, and made it a draught house unto this day. %%% Ne bamenyamenya empagi ya Baali ne bamenyamenya essabo lya Baali ne balifuula ekiyigo ne leero. 12K2I010.028 Thus Jehu destroyed Baal out of Israel. %%% Bw'atyo Yeeku bwe yazikiriza Baali okumumalawo mu Isiraeri. 12K2I010.029 Howbeit from the sins of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin, Jehu departed not from after them, to wit, the golden calves that were in Bethel, and that were in Dan. %%% Era naye Yeeku teyaleka kugoberera bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri, ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri n'ezaali mu Ddaani. 12K2I010.030 And the LORD said unto Jehu, Because thou hast done well in executing that which is right in mine eyes, and hast done unto the house of Ahab according to all that was in mine heart, thy children of the fourth generation shall sit on the throne of Israel. %%% Mukama n'agamba Yeeku nti Kubanga okoze bulungi ng'otuukirizza ebiri mu maaso gange ebirungi, n'okola ennyumba ya Akabu nga byonna bwe biri ebyali mu mutima gwange, batabani bo bannakana kyebaliva batuula ku ntebe ya Isiraeri. 12K2I010.031 But Jehu took no heed to walk in the law of the LORD God of Israel with all his heart: for he departed not from the sins of Jeroboam, which made Israel to sin. %%% Naye Yeeku n'atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isiraeri n'omutima gwe gwonna; teyava mu bibi bya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri. 12K2I010.032 In those days the LORD began to cut Israel short: and Hazael smote them in all the coasts of Israel; %%% Mu biro ebyo Mukama n'atanula okukendeeza Isiraeri: Kazayeeri n'abakubira mu nsalo zonna eza Isiraeri; 12K2I010.033 From Jordan eastward, all the land of Gilead, the Gadites, and the Reubenites, and the Manassites, from Aroer, which is by the river Arnon, even Gilead and Bashan. %%% okuva ku Yoludaani ebuvanjuba, ensi yonna ey'e Gireydi, Abagaadi n'Abalewubeeni n'Abamanase, okuva ku Aloweri ekiriraanye ekiwonvu kya Alunoni, Gireyaadi ne Basani. 12K2I010.034 Now the rest of the acts of Jehu, and all that he did, and all his might, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yeeku ne byonna bye yakola, n'amaanyi ge gonna tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 12K2I010.035 And Jehu slept with his fathers: and they buried him in Samaria. And Jehoahaz his son reigned in his stead. %%% Yeeku ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu Samaliya. Yekoyakaazi mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I010.036 And the time that Jehu reigned over Israel in Samaria was twenty and eight years. %%% Era ebiro Yeeku bye yafugira Isiraeri mu Samaliya byali emyaka amakumi abiri mu munaana. 12K2I011.001 And when Athaliah the mother of Ahaziah saw that her son was dead, she arose and destroyed all the seed royal. %%% Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka. 12K2I011.002 But Jehosheba, the daughter of king Joram, sister of Ahaziah, took Joash the son of Ahaziah, and stole him from among the king's sons which were slain; and they hid him, even him and his nurse, in the bedchamber from Athaliah, so that he was not slain. %%% Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n’amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, ye n'omulezi we n'abateeka mu kisenge eky'okusulamu; ne bamukweka Asaliya, aleme okuttibwa. 12K2I011.003 And he was with her hid in the house of the LORD six years. And Athaliah did reign over the land. %%% Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n’afuga ensi. 12K2I011.004 And the seventh year Jehoiada sent and fetched the rulers over hundreds, with the captains and the guard, and brought them to him into the house of the LORD, and made a covenant with them, and took an oath of them in the house of the LORD, and shewed them the king's son. %%% Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada n'atuma n'akima abaami b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagaana nabo endagaano n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka. 12K2I011.005 And he commanded them, saying, This is the thing that ye shall do; A third part of you that enter in on the sabbath shall even be keepers of the watch of the king's house; %%% Awo n'abalagira ng'ayogera nti Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abaayingira ku ssabbiiti banaaba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya kabaka; 12K2I011.006 And a third part shall be at the gate of Sur; and a third part at the gate behind the guard: so shall ye keep the watch of the house, that it be not broken down. %%% n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango Suuli: n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango ennyuma w'abambowa: bwe mutyo bwe munaaba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba, ne muba lukomera. 12K2I011.007 And two parts of all you that go forth on the sabbath, even they shall keep the watch of the house of the LORD about the king. %%% N'ebibiina byammwe ebibiri, bonna abaafuluma ku ssabbiiti, muliba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya Mukama okwetooloola kabaka. 12K2I011.008 And ye shall compass the king round about, every man with his weapons in his hand: and he that cometh within the ranges, let him be slain: and be ye with the king as he goeth out and as he cometh in. %%% Era muneetooloola kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwaanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingira mu nnyiriri attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga. 12K2I011.009 And the captains over the hundreds did according to all things that Jehoiada the priest commanded: and they took every man his men that were to come in on the sabbath, with them that should go out on the sabbath, and came to Jehoiada the priest. %%% Abaami b'ebikuni ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyaada kabona. 12K2I011.010 And to the captains over hundreds did the priest give king David's spears and shields, that were in the temple of the LORD. %%% Awo kabona n'abawa abaami b'ebikumi amafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Mukama. 12K2I011.011 And the guard stood, every man with his weapons in his hand, round about the king, from the right corner of the temple to the left corner of the temple, along by the altar and the temple. %%% Awo abambowa ne bayimirira, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n'ennyumba awali kabaka enjuyi zonna. 12K2I011.012 And he brought forth the king's son, and put the crown upon him, and gave him the testimony; and they made him king, and anointed him; and they clapped their hands, and said, God save the king. %%% Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n’amuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka ne bamufukako amafuta; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu. 12K2I011.013 And when Athaliah heard the noise of the guard and of the people, she came to the people into the temple of the LORD. %%% Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abambowa n'olw'abantu, n’ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama: 12K2I011.014 And when she looked, behold, the king stood by a pillar, as the manner was, and the princes and the trumpeters by the king, and all the people of the land rejoiced, and blew with trumpets: and Athaliah rent her clothes, and cried, Treason, Treason. %%% n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Bujeemu, bujeemu. 12K2I011.015 But Jehoiada the priest commanded the captains of the hundreds, the officers of the host, and said unto them, Have her forth without the ranges: and him that followeth her kill with the sword. For the priest had said, Let her not be slain in the house of the LORD. %%% Awo Yekoyaada kabona n'alagira abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera mumutte n'ekitala: kubanga kabona yayogera nti Aleme okuttirwa mu nnyumba ya Mukama. 12K2I011.016 And they laid hands on her; and she went by the way by the which the horses came into the king's house: and there was she slain. %%% Awo ne bamusegulira; n'ayita mu kkubo embalaasi we ziyingirira mu nnyumba ya kabaka: n'attirwa eyo. 12K2I011.017 And Jehoiada made a covenant between the LORD and the king and the people, that they should be the LORD's people; between the king also and the people. %%% Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano eri Mukama ne kabaka n'abantu, babeere abantu ba Mukama; era eri kabaka n'abantu. 12K2I011.018 And all the people of the land went into the house of Baal, and brake it down; his altars and his images brake they in pieces thoroughly, and slew Mattan the priest of Baal before the altars. And the priest appointed officers over the house of the LORD. %%% Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu nnyumba ya Baali, ne bagimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. Awo kabona n'assaawo abaami ab'oku nnyumba ya Mukama. 12K2I011.019 And he took the rulers over hundreds, and the captains, and the guard, and all the people of the land; and they brought down the king from the house of the LORD, and came by the way of the gate of the guard to the king's house. And he sat on the throne of the kings. %%% N'atwala abaami b'ebikumi n'Abakali, n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango gw'abambowa eri ennyumba ya kabaka. 12K2I011.020 And all the people of the land rejoiced, and the city was in quiet: and they slew Athaliah with the sword beside the king's house. %%% Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne battira Asaliya n'ekitala awali ennyumba ya kabaka. 12K2I011.021 Seven years old was Jehoash when he began to reign. %%% Yekoyaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga. 12K2I012.001 In the seventh year of Jehu Jehoash began to reign; and forty years reigned he in Jerusalem. And his mother's name was Zibiah of Beersheba. %%% Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku Yekoyaasi n'atanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba. 12K2I012.002 And Jehoash did that which was right in the sight of the LORD all his days wherein Jehoiada the priest instructed him. %%% Yekoyaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu. 12K2I012.003 But the high places were not taken away: the people still sacrificed and burnt incense in the high places. %%% Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawaayo ssaddaaka ne bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu. 12K2I012.004 And Jehoash said to the priests, All the money of the dedicated things that is brought into the house of the LORD, even the money of every one that passeth the account, the money that every man is set at, and all the money that cometh into any man's heart to bring into the house of the LORD, %%% Awo Yekoyaasi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, eziyitaŋŋana, effeeza ez'abantu buli muntu z'awandiikirwa, n'effeeza zonna omuntu yenna ze yettula okuleeta mu nnyumba ya Mukama, 12K2I012.005 Let the priests take it to them, every man of his acquaintance: and let them repair the breaches of the house, wheresoever any breach shall be found. %%% bakabona bazitwale ewaabwe, buli muntu ng'aziggya ku abo b'amanyi: kale baliziba ebituli by'ennyumba yonna yonna ekituli gye kinaalabikira. 12K2I012.006 But it was so, that in the three and twentieth year of king Jehoash the priests had not repaired the breaches of the house. %%% Naye olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa kabaka Yekoyaasi bakabona nga tebannaziba bituli bya nnyumba. 12K2I012.007 Then king Jehoash called for Jehoiada the priest, and the other priests, and said unto them, Why repair ye not the breaches of the house? now therefore receive no more money of your acquaintance, but deliver it for the breaches of the house. %%% Awo kabaka Yekoyaasi n'ayita Yekoyaada kabona ne bakabona abalala n'abagamba nti Kiki ekibalobera okuziba ebituli by'ennyumba? kale nno temweyongera kuggya ffeeza ku abo be mumanyi, naye mugisasule olw'ebituli by'ennyumba. 12K2I012.008 And the priests consented to receive no more money of the people, neither to repair the breaches of the house. %%% Awo bakabona ne bakkiriza obutaggya nate ffeeza ku bantu newakubadde okuziba ebituli by'ennyumba. 12K2I012.009 But Jehoiada the priest took a chest, and bored a hole in the lid of it, and set it beside the altar, on the right side as one cometh into the house of the LORD: and the priests that kept the door put therein all the money that was brought into the house of the LORD. %%% Naye Yekoyada kabona n'addira ebbweta n'awummula ekituli mu kisnikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abaakuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezleetebwanga mu nnyumba ya Mukama. 12K2I012.010 And it was so, when they saw that there was much money in the chest, that the king's scribe and the high priest came up, and they put up in bags, and told the money that was found in the house of the LORD. %%% Awo olwatuuka bwe baalaba nga mu bbweta mulimu effeeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bambuka, ne batereka effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama mu nsawo, ne bazibala. 12K2I012.011 And they gave the money, being told, into the hands of them that did the work, that had the oversight of the house of the LORD: and they laid it out to the carpenters and builders, that wrought upon the house of the LORD, %%% Ne bawa effeeza ezaagerebwa mu mikono gy'abo abaakola emirimu abaalabirira ennyumba ya Mukama: ne baziwyo eri ababazzi n'abazimbi abaakola emirimu gy'ennyumba ya Mukama, 12K2I012.012 And to masons, and hewers of stone, and to buy timber and hewed stone to repair the breaches of the house of the LORD, and for all that was laid out for the house to repair it. %%% n'eri abazimbi b'amayinja n’abatema amayinja n'olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuziba ebituli by'ennyumba ya Mukama, n'olwa byonna ebyajjirira ennyumba okugiddaabiriza. 12K2I012.013 Howbeit there were not made for the house of the LORD bowls of silver, snuffers, basons, trumpets, any vessels of gold, or vessels of silver, of the money that was brought into the house of the LORD: %%% Naye ebikompe ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'amakondeere n'ebintu byonna ebya zaabu oba ebintu ebya ffeeza tebyakolerwa nnyumba ya Mukama n'effeeza ezaaletebwa mu nnyumba ya Mukama: 12K2I012.014 But they gave that to the workmen, and repaired therewith the house of the LORD. %%% kubanga ezo ne baziwa abo abaakola emirimu, era ne baziddaabirizisa ennyumba ya Mukama. 12K2I012.015 Moreover they reckoned not with the men, into whose hand they delivered the money to be bestowed on workmen: for they dealt faithfully. %%% Era tebaabalirira muwendo eri abasajja be baawa effeeza mu mukono gwabwe okubawa abo abaakola emirimu: kubanga baakolanga n'obwesigwa. 12K2I012.016 The trespass money and sin money was not brought into the house of the LORD: it was the priests'. %%% Effeeza ez'ebiweebwayo olw'omusango n'effeeza ez'ebiweebwayo olw'okwonoona tezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama: zaabanga za bakabona. 12K2I012.017 Then Hazael king of Syria went up, and fought against Gath, and took it: and Hazael set his face to go up to Jerusalem. %%% Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ayambuka n'alwana ne Gaasi n'akimenya: Kazayeeri n'asimba amaaso ge okwambuka e Yerusaalemi. 12K2I012.018 And Jehoash king of Judah took all the hallowed things that Jehoshaphat, and Jehoram, and Ahaziah, his fathers, kings of Judah, had dedicated, and his own hallowed things, and all the gold that was found in the treasures of the house of the LORD, and in the king's house, and sent it to Hazael king of Syria: and he went away from Jerusalem. %%% Awo Yekoyaasi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna ebyatukuzibwa, Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda bye baawonga, n'ebintu bye ye ebyatukuzibwa n'ezaabu yonna eyalabika mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka w'e Busuuli: n'ava ku Yerusaalemi. 12K2I012.019 And the rest of the acts of Joash, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I012.020 And his servants arose, and made a conspiracy, and slew Joash in the house of Millo, which goeth down to Silla. %%% Abaddu be ne bagolokoka ne beekobaana ne battira Yowaasi awali ennyumba ey'e Miiro ku kkubo eriserengeta e Sirra. 12K2I012.021 For Jozachar the son of Shimeath, and Jehozabad the son of Shomer, his servants, smote him, and he died; and they buried him with his fathers in the city of David: and Amaziah his son reigned in his stead. %%% Kubanga Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, abaddu be baamufumita n'afa; ne bamuziikira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I013.001 In the three and twentieth year of Joash the son of Ahaziah king of Judah Jehoahaz the son of Jehu began to reign over Israel in Samaria, and reigned seventeen years. %%% Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu. 12K2I013.002 And he did that which was evil in the sight of the LORD, and followed the sins of Jeroboam the son of Nebat, which made Israel to sin; he departed not therefrom. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivaamu. 12K2I013.003 And the anger of the LORD was kindled against Israel, and he delivered them into the hand of Hazael king of Syria, and into the hand of Benhadad the son of Hazael, all their days. %%% Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'ebagabula mu mukono gwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna. 12K2I013.004 And Jehoahaz besought the LORD, and the LORD hearkened unto him: for he saw the oppression of Israel, because the king of Syria oppressed them. %%% Awo Yekoyakaazi n'amwegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka w'e Busuuli bwe yabajooga. 12K2I013.005 (And the LORD gave Israel a saviour, so that they went out from under the hand of the Syrians: and the children of Israel dwelt in their tents, as beforetime. %%% (Awo Mukama n'awa Isiraeri omulokozi n'okuva ne bava wansi w'omukono gw'Abasuuli: abaana ba Isiraeri ne babeera mu weema zaabwe ng'olubereberye. 12K2I013.006 Nevertheless they departed not from the sins of the house of Jeroboam, who made Israel sin, but walked therein: and there remained the grove also in Samaria.) %%% Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri, naye ne batambulira omwo: ne Baasera ne basigala mu Samaliya.) 12K2I013.007 Neither did he leave of the people to Jehoahaz but fifty horsemen, and ten chariots, and ten thousand footmen; for the king of Syria had destroyed them, and had made them like the dust by threshing. %%% Kubanga teyalekera Yekoyakaazi ku bantu wabula abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano n'amagaali kkumi n'abatambula n'ebigere kakumi; kubanga kabaka w'e Busuuli yabazikiriza, n'abafuula ng'enfuufu ey'omu gguuliro. 12K2I013.008 Now the rest of the acts of Jehoahaz, and all that he did, and his might, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakaazi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 12K2I013.009 And Jehoahaz slept with his fathers; and they buried him in Samaria: and Joash his son reigned in his stead. %%% Yekoyakaazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika mu Samaliya: Yowaasi mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I013.010 In the thirty and seventh year of Joash king of Judah began Jehoash the son of Jehoahaz to reign over Israel in Samaria, and reigned sixteen years. %%% Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga. 12K2I013.011 And he did that which was evil in the sight of the LORD; he departed not from all the sins of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel sin: but he walked therein. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri: naye n'atambulira omwo. 12K2I013.012 And the rest of the acts of Joash, and all that he did, and his might wherewith he fought against Amaziah king of Judah, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 12K2I013.013 And Joash slept with his fathers; and Jeroboam sat upon his throne: and Joash was buried in Samaria with the kings of Israel. %%% Yowaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Yerobowaamu n'atuula ku ntebe ye: Yowaasi n'aziikirwa mu Samaliya wamu ne bassekabaka ba Isiraeri. 12K2I013.014 Now Elisha was fallen sick of his sickness whereof he died. And Joash the king of Israel came down unto him, and wept over his face, and said, O my father, my father, the chariot of Israel, and the horsemen thereof. %%% Awo Erisa yali alwadde endwadde ye eyamutta: Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'aserengeta gy'ali n'amukaabira amaziga n'ayogera nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'abasajja be abeebagala embalaasi! 12K2I013.015 And Elisha said unto him, Take bow and arrows. And he took unto him bow and arrows. %%% Erisa n'amugamba nti Ddira omutego n'obusaale: n’addira omutego n'obusaale. 12K2I013.016 And he said to the king of Israel, Put thine hand upon the bow. And he put his hand upon it: and Elisha put his hands upon the king's hands. %%% N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Teeka omukono gwo ku mutego: n'aguteekako omukono. Erisa n'ateeka emikono gye ku mikono gya kabaka. 12K2I013.017 And he said, Open the window eastward. And he opened it. Then Elisha said, Shoot. And he shot. And he said, The arrow of the LORD's deliverance, and the arrow of deliverance from Syria: for thou shalt smite the Syrians in Aphek, till thou have consumed them. %%% N'ayogera nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Awo Erisa n'ayogera nti Lasa: n'alasa. N'ayogera nti Akasaale ka Mukama ak'obulokozi, ke kasaale ak'obulokozi eri Obusuuli: kubanga olikuba Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo. 12K2I013.018 And he said, Take the arrows. And he took them. And he said unto the king of Israel, Smite upon the ground. And he smote thrice, and stayed. %%% N'ayogera nti Ddira obusaale: n'abuddira. N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Kuba ku ttaka: n'akuba emirundi esatu n'alekera awo. 12K2I013.019 And the man of God was wroth with him, and said, Thou shouldest have smitten five or six times; then hadst thou smitten Syria till thou hadst consumed it: whereas now thou shalt smite Syria but thrice. %%% Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kaakano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka. 12K2I013.020 And Elisha died, and they buried him. And the bands of the Moabites invaded the land at the coming in of the year. %%% Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowaabu ne bazindanga ensi omwaka bwe gwayingiranga. 12K2I013.021 And it came to pass, as they were burying a man, that, behold, they spied a band of men; and they cast the man into the sepulchre of Elisha: and when the man was let down, and touched the bones of Elisha, he revived, and stood up on his feet. %%% Awo olwatuuka bwe baali nga baziika omusajja, kale, laba, ne balaba ekibiina; ne basuula omusajja mu ntaana ya Erisa: awo omusajja nga kyajje akome ku magumba ga Erisa, n'alamuka n'ayimirira n'ebigere. 12K2I013.022 But Hazael king of Syria oppressed Israel all the days of Jehoahaz. %%% Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajoogera Isiraeri emirembe gyonna egya Yekoyakaazi. 12K2I013.023 And the LORD was gracious unto them, and had compassion on them, and had respect unto them, because of his covenant with Abraham, Isaac, and Jacob, and would not destroy them, neither cast he them from his presence as yet. %%% Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abasaasira n'assaayo omwoyo eri bo, olw'endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu biro ebyo. 12K2I013.024 So Hazael king of Syria died; and Benhadad his son reigned in his stead. %%% Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'afa; Benikadadi mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I013.025 And Jehoash the son of Jehoahaz took again out of the hand of Benhadad the son of Hazael the cities, which he had taken out of the hand of Jehoahaz his father by war. Three times did Joash beat him, and recovered the cities of Israel. %%% Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukono gwa Yekoyakaazi kitaawe ng'alwana. Yowaasi n'amukuba emirundi esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri. 12K2I014.001 In the second year of Joash son of Jehoahaz king of Israel reigned Amaziah the son of Joash king of Judah. %%% Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Yowaasi mutabani wa Yowakaazi kabaka wa Isiraeri Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'atanula okufuga. 12K2I014.002 He was twenty and five years old when he began to reign, and reigned twenty and nine years in Jerusalem. And his mother's name was Jehoaddan of Jerusalem. %%% Yali yakamaze emyaka makumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoyadiini ow'e Yerusaalemi. 12K2I014.003 And he did that which was right in the sight of the LORD, yet not like David his father: he did according to all things as Joash his father did. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, naye nga tamwenkana Dawudi kitaawe bye yakola nga byonna bwe byali Yowaasi kitaawe bye yakolanga. 12K2I014.004 Howbeit the high places were not taken away: as yet the people did sacrifice and burnt incense on the high places. %%% Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawaayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu. 12K2I014.005 And it came to pass, as soon as the kingdom was confirmed in his hand, that he slew his servants which had slain the king his father. %%% Awo olwatuuka obwakabaka nga kye bujje bunywezebwe mu mukono gwe n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe: 12K2I014.006 But the children of the murderers he slew not: according unto that which is written in the book of the law of Moses, wherein the LORD commanded, saying, The fathers shall not be put to death for the children, nor the children be put to death for the fathers; but every man shall be put to death for his own sin. %%% naye abaana b'abassi teyabatta: ng'ebyo bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, nga Mukama bwe yalagira ng'ayogera nti Bakitaabwe tebattibwanga ku lw'abaana, so n'abaana tebattibwanga ku lwa bakitaabwe; naye buli muntu anaafanga olw'okwonoona kwe ye. 12K2I014.007 He slew of Edom in the valley of salt ten thousand, and took Selah by war, and called the name of it Joktheel unto this day. %%% Ku Edomu n'attirako kakumi mu Kiwonvu eky'Omunnyo, n'amenya Seera ng'alwana, n'akituuma erinnya lyakyo Yokuseeri ne leero. 12K2I014.008 Then Amaziah sent messengers to Jehoash, the son of Jehoahaz son of Jehu, king of Israel, saying, Come, let us look one another in the face. %%% Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri: ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso. 12K2I014.009 And Jehoash the king of Israel sent to Amaziah king of Judah, saying, The thistle that was in Lebanon sent to the cedar that was in Lebanon, saying, Give thy daughter to my son to wife: and there passed by a wild beast that was in Lebanon, and trode down the thistle. %%% Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogw'ali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Muwe muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango. 12K2I014.010 Thou hast indeed smitten Edom, and thine heart hath lifted thee up: glory of this, and tarry at home: for why shouldest thou meddle to thy hurt, that thou shouldest fall, even thou, and Judah with thee? %%% Mazima okubye Edomu, n'omutima gwo gukugulumizizza okyenyumiririzeemu obeere eka; kubanga lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa ggwe ne Yuda wamu naawe? 12K2I014.011 But Amaziah would not hear. Therefore Jehoash king of Israel went up; and he and Amaziah king of Judah looked one another in the face at Bethshemesh, which belongeth to Judah. %%% Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda. 12K2I014.012 And Judah was put to the worse before Israel; and they fled every man to their tents. %%% Yuda n'agobebwa mu maaso ga Isiraeri; ne baddukira buli muntu mu weema ye. 12K2I014.013 And Jehoash king of Israel took Amaziah king of Judah, the son of Jehoash the son of Ahaziah, at Bethshemesh, and came to Jerusalem, and brake down the wall of Jerusalem from the gate of Ephraim unto the corner gate, four hundred cubits. %%% Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi mutabani wa Akaziya e Besusemesi, n'ajja e Yerusaalemi n'amenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina. 12K2I014.014 And he took all the gold and silver, and all the vessels that were found in the house of the LORD, and in the treasures of the king's house, and hostages, and returned to Samaria. %%% N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n'ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, era n'ab'emisango, n'addayo e Samaliya. 12K2I014.015 Now the rest of the acts of Jehoash which he did, and his might, and how he fought with Amaziah king of Judah, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi bye yakola n'amaanyi ge era bwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 12K2I014.016 And Jehoash slept with his fathers, and was buried in Samaria with the kings of Israel; and Jeroboam his son reigned in his stead. %%% Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikirwa mu Samaliya wamu ne bakabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I014.017 And Amaziah the son of Joash king of Judah lived after the death of Jehoash son of Jehoahaz king of Israel fifteen years. %%% Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'amala emyaka kkumi n'etaano Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okufa. 12K2I014.018 And the rest of the acts of Amaziah, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya basse kabaka ba Yuda? 12K2I014.019 Now they made a conspiracy against him in Jerusalem: and he fled to Lachish; but they sent after him to Lachish, and slew him there. %%% Ne bamwekobaanira mu Yerusaalemi; n'addukira e Lakisi: naye ne batuma Erakisi okumugoberera ne bamuttira eyo. 12K2I014.020 And they brought him on horses: and he was buried at Jerusalem with his fathers in the city of David. %%% Ne bamuleetera ku mbalaasi: n'aziikibwa mu Yerusaalemi wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. 12K2I014.021 And all the people of Judah took Azariah, which was sixteen years old, and made him king instead of his father Amaziah. %%% Awo abantu bonna aba Yuda ne batwala Azaliya eyali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga, ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya. 12K2I014.022 He built Elath, and restored it to Judah, after that the king slept with his fathers. %%% Ye yazimba Erasi n'akizza eri Yuda, kabaka ng'amaze okwebakira awamu ne bajjajjaabe. 12K2I014.023 In the fifteenth year of Amaziah the son of Joash king of Judah Jeroboam the son of Joash king of Israel began to reign in Samaria, and reigned forty and one years. %%% Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atanula okufuga mu Samaliya, n'afugira emyaka amakumi ana mu gumu. 12K2I014.024 And he did that which was evil in the sight of the LORD: he departed not from all the sins of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri. 12K2I014.025 He restored the coast of Israel from the entering of Hamath unto the sea of the plain, according to the word of the LORD God of Israel, which he spake by the hand of his servant Jonah, the son of Amittai, the prophet, which was of Gathhepher. %%% Yazzaayo ensalo ya Isiraeri okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku nnyanja eya Alaba, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama Katonda wa Isiraeri kye yayogerera mu mukono gw'omuddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow'e Gasukeferi. 12K2I014.026 For the LORD saw the affliction of Israel, that it was very bitter: for there was not any shut up, nor any left, nor any helper for Israel. %%% Kubanga Mukama n'alaba okubonyabonyezebwa kwa Isiraeri, nga kuzibu nnyo: kubanga tewaali eyasibibwa newakubadde ataasibibwa, wadde omubeezi eri Isiraeri. 12K2I014.027 And the LORD said not that he would blot out the name of Israel from under heaven: but he saved them by the hand of Jeroboam the son of Joash. %%% Mukama n'atayogera ng'alisangula erinnya lya Isiraeri okuva wansi w'eggulu: naye n'abalokolera mu mukono gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi. 12K2I014.028 Now the rest of the acts of Jeroboam, and all that he did, and his might, how he warred, and how he recovered Damascus, and Hamath, which belonged to Judah, for Israel, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu ne byonna bye yakola n'amaanyi ge bwe yalwana ne bwe yakomezaawo Isiraeri Ddamasiko ne Kamasi ebyabanga ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 12K2I014.029 And Jeroboam slept with his fathers, even with the kings of Israel; and Zachariah his son reigned in his stead. %%% Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, be bassekabaka ba Isiraeri; Zekkaliya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I015.001 In the twenty and seventh year of Jeroboam king of Israel began Azariah son of Amaziah king of Judah to reign. %%% Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Azaliya mutabani wa Amaziya kabaka wa Yuda n’atanula okufuga. 12K2I015.002 Sixteen years old was he when he began to reign, and he reigned two and fifty years in Jerusalem. And his mother's name was Jecholiah of Jerusalem. %%% Yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemi. 12K2I015.003 And he did that which was right in the sight of the LORD, according to all that his father Amaziah had done; %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe biri kitaawe Amaziya bye yakolanga. 12K2I015.004 Save that the high places were not removed: the people sacrificed and burnt incense still on the high places. %%% Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu. 12K2I015.005 And the LORD smote the king, so that he was a leper unto the day of his death, and dwelt in a several house. And Jotham the king's son was over the house, judging the people of the land. %%% Awo Mukama n'alwaza kabaka n'okugengewala n'agengewala okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'asulanga mu nnyumba eyayawulwa. Era Yosamu mutabani wa kabaka ye yali saabakaaki ng'asalira abantu ab'omu nsi emisango. 12K2I015.006 And the rest of the acts of Azariah, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Azaliya ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I015.007 So Azariah slept with his fathers; and they buried him with his fathers in the city of David: and Jotham his son reigned in his stead. %%% Azaliya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziikira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yosamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I015.008 In the thirty and eighth year of Azariah king of Judah did Zachariah the son of Jeroboam reign over Israel in Samaria six months. %%% Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyezi mukaaga. 12K2I015.009 And he did that which was evil in the sight of the LORD, as his fathers had done: he departed not from the sins of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga bajjajjaabe bwe baakolanga: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri. 12K2I015.010 And Shallum the son of Jabesh conspired against him, and smote him before the people, and slew him, and reigned in his stead. %%% Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'amwekobaana n'amufumitira mu maaso g'abantu n'amutta, n'afuga mu kifo kye. 12K2I015.011 And the rest of the acts of Zachariah, behold, they are written in the book of the chronicles of the kings of Israel. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zekkaliya, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. 12K2I015.012 This was the word of the LORD which he spake unto Jehu, saying, Thy sons shall sit on the throne of Israel unto the fourth generation. And so it came to pass. %%% Ekyo kye kyali ekigambo kya Mukama kye yagamba Yeeku nti Batabani bo balituusa emirembe egy'okuna okutuula ku ntebe ya Isiraeri. Era ne kituukirira bwe kityo. 12K2I015.013 Shallum the son of Jabesh began to reign in the nine and thirtieth year of Uzziah king of Judah; and he reigned a full month in Samaria. %%% Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'atanula okufuga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogwa Uzziya kabaka wa Yuda; n'afugira ebbanga ery'omwezi mu Samaliya. 12K2I015.014 For Menahem the son of Gadi went up from Tirzah, and came to Samaria, and smote Shallum the son of Jabesh in Samaria, and slew him, and reigned in his stead. %%% Awo Menakemu mutabani wa Gaadi n'ayambuka ng'ava e Tiruza n'ajja e Samaliya n'afumitira Sallumu mutabani wa Yabesi mu Samaliya, n'amutta n'afuga mu kifo kye. 12K2I015.015 And the rest of the acts of Shallum, and his conspiracy which he made, behold, they are written in the book of the chronicles of the kings of Israel. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sallumu n'okwekoba kwe kwe yeekoba, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. 12K2I015.016 Then Menahem smote Tiphsah, and all that were therein, and the coasts thereof from Tirzah: because they opened not to him, therefore he smote it; and all the women therein that were with child he ripped up. %%% Awo Menakemu n'akuba Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ensalo zaakyo okuva e Tiruza: kubanga tebaamuggulirawo, kyeyava akikuba; abakazi bonna abaakirimu abaali embuto n'ababaaga. 12K2I015.017 In the nine and thirtieth year of Azariah king of Judah began Menahem the son of Gadi to reign over Israel, and reigned ten years in Samaria. %%% Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Menakemu mutabani wa Gaadi n'atanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka kkumi mu Samaliya. 12K2I015.018 And he did that which was evil in the sight of the LORD: he departed not all his days from the sins of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ennaku ze zonna nga tava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri: 12K2I015.019 And Pul the king of Assyria came against the land: and Menahem gave Pul a thousand talents of silver, that his hand might be with him to confirm the kingdom in his hand. %%% Puli kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ensi; Menakemu n'awa Puli talanta za ffeeza lukumi, omukono gwe gubeerenga naye okunyweza obwakabaka mu mukono gwe. 12K2I015.020 And Menahem exacted the money of Israel, even of all the mighty men of wealth, of each man fifty shekels of silver, to give to the king of Assyria. So the king of Assyria turned back, and stayed not there in the land. %%% Menakemu n'asolooza effeeza ku Isiraeri ku basajja bonna abagagga, ku buli musajja ffeeza sekeri amakumi ataano, okuwa kabaka w'e Bwasuli. Awo kabaka w'e Bwasuli n'addayo n'atabeera eyo mu nsi. 12K2I015.021 And the rest of the acts of Menahem, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Menakemu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 12K2I015.022 And Menahem slept with his fathers; and Pekahiah his son reigned in his stead. %%% Menakemu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Pekakiya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I015.023 In the fiftieth year of Azariah king of Judah Pekahiah the son of Menahem began to reign over Israel in Samaria, and reigned two years. %%% Mu mwaka ogw'amakumi ataano ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Pekakiya mutabani wa Menakemu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afuga emyaka ebiri: 12K2I015.024 And he did that which was evil in the sight of the LORD: he departed not from the sins of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri. 12K2I015.025 But Pekah the son of Remaliah, a captain of his, conspired against him, and smote him in Samaria, in the palace of the king's house, with Argob and Arieh, and with him fifty men of the Gileadites: and he killed him, and reigned in his room. %%% Awo Peka mutabani wa Lemaliya omwami we n'amwekobaana n'amufumitira mu Samaliya mu kigo eky'omu nnyumba ya kabaka wamu ne Alugobu ne Aliye; era abasajja amakumi ataano ab'oku Bagireyaadi ne baba wamu naye: n'amutta n'afuga mu kifo kye. 12K2I015.026 And the rest of the acts of Pekahiah, and all that he did, behold, they are written in the book of the chronicles of the kings of Israel. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Pekakiya ne byonna bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. 12K2I015.027 In the two and fiftieth year of Azariah king of Judah Pekah the son of Remaliah began to reign over Israel in Samaria, and reigned twenty years. %%% Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Lemaliya n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka amakumi abiri. 12K2I015.028 And he did that which was evil in the sight of the LORD: he departed not from the sins of Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri. 12K2I015.029 In the days of Pekah king of Israel came Tiglathpileser king of Assyria, and took Ijon, and Abelbethmaachah, and Janoah, and Kedesh, and Hazor, and Gilead, and Galilee, all the land of Naphtali, and carried them captive to Assyria. %%% Ku mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n'ajja n'amenya Iyoni ne Aberubesumka ne Yanowa Kedesi ne Kazoli ne Gireyaadi Ggaliraaya, ensi yonna eya Nafutali; n'abatwala nga basibe e Bwasuli 12K2I015.030 And Hoshea the son of Elah made a conspiracy against Pekah the son of Remaliah, and smote him, and slew him, and reigned in his stead, in the twentieth year of Jotham the son of Uzziah. %%% Awo Koseya mutabani wa Era ne yeekobaana Peka mutabani wa Lamaliya, n'amufumita n'amutta n'afuga mu kifo kye mu mwaka ogw’amakumi abiri ogwa Yosamu mutabani wa Uzziya. 12K2I015.031 And the rest of the acts of Pekah, and all that he did, behold, they are written in the book of the chronicles of the kings of Israel. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Peka ne byonna bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. 12K2I015.032 In the second year of Pekah the son of Remaliah king of Israel began Jotham the son of Uzziah king of Judah to reign. %%% Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri Yosamu mutabani wa Uzziya kabaka wa Yuda n'atanula okufuga. 12K2I015.033 Five and twenty years old was he when he began to reign, and he reigned sixteen years in Jerusalem. And his mother's name was Jerusha, the daughter of Zadok. %%% Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadooki. 12K2I015.034 And he did that which was right in the sight of the LORD: he did according to all that his father Uzziah had done. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: yakola nga byonna bwe biri kitaawe Uzziya bye yakola, 12K2I015.035 Howbeit the high places were not removed: the people sacrificed and burned incense still in the high places. He built the higher gate of the house of the LORD. %%% Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu. N'azimba omulyango ogw'engulu ogw'omu nnyumba ya Mukama, 12K2I015.036 Now the rest of the acts of Jotham, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I015.037 In those days the LORD began to send against Judah Rezin the king of Syria, and Pekah the son of Remaliah. %%% Mu biro ebyo Mukama mwe yatanulira okusindika Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya okulwana ne Yuda. 12K2I015.038 And Jotham slept with his fathers, and was buried with his fathers in the city of David his father: and Ahaz his son reigned in his stead. %%% Awo Yosamu ne Yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Akazi mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I016.001 In the seventeenth year of Pekah the son of Remaliah Ahaz the son of Jotham king of Judah began to reign. %%% Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Peka mutabani wa Lemaliya Akazi mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda n'atanula okufuga. 12K2I016.002 Twenty years old was Ahaz when he began to reign, and reigned sixteen years in Jerusalem, and did not that which was right in the sight of the LORD his God, like David his father. %%% Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: n'atakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi nga Dawudi kitaawe. 12K2I016.003 But he walked in the way of the kings of Israel, yea, and made his son to pass through the fire, according to the abominations of the heathen, whom the LORD cast out from before the children of Israel. %%% Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'okuyisa n'ayisa mutabani we mu muliro ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 12K2I016.004 And he sacrificed and burnt incense in the high places, and on the hills, and under every green tree. %%% N'awangayo saddaaka n'ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi. 12K2I016.005 Then Rezin king of Syria and Pekah son of Remaliah king of Israel came up to Jerusalem to war: and they besieged Ahaz, but could not overcome him. %%% Awo Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ne bambuka e Yerusaalemi okulwana: ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula. 12K2I016.006 At that time Rezin king of Syria recovered Elath to Syria, and drave the Jews from Elath: and the Syrians came to Elath, and dwelt there unto this day. %%% Mu biro ebyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yakomerezaawo Obusuuli e Erasi n'agoba Abayudaaya mu Erasi: Abasuuli ne bajja e Erasi ne babeera eyo ne leero. 12K2I016.007 So Ahaz sent messengers to Tiglathpileser king of Assyria, saying, I am thy servant and thy son: come up, and save me out of the hand of the king of Syria, and out of the hand of the king of Israel, which rise up against me. %%% Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo : yambuka omponye mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abangolokokeddeko. 12K2I016.008 And Ahaz took the silver and gold that was found in the house of the LORD, and in the treasures of the king's house, and sent it for a present to the king of Assyria. %%% Awo Akazi n'addira ezaabu n’effeeza ezaalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli okuba ekirabo. 12K2I016.009 And the king of Assyria hearkened unto him: for the king of Assyria went up against Damascus, and took it, and carried the people of it captive to Kir, and slew Rezin. %%% Awo kabaka w'e Bwasuli n'amuwulira: kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Ddamasiko n'akimenya, n'atwala abaayo nga basibe e Kiri, n'atta Lezini. 12K2I016.010 And king Ahaz went to Damascus to meet Tiglathpileser king of Assyria, and saw an altar that was at Damascus: and king Ahaz sent to Urijah the priest the fashion of the altar, and the pattern of it, according to all the workmanship thereof. %%% Awo kabaka Akazi n'agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'alaba ekyoto ekyali e Ddamasiko: kabaka Akazi n'aweereza Uliya kabona embala y'ekyoto n'engeri yaakyo ng'omulimu gwakyo gwonna bwe gwali. 12K2I016.011 And Urijah the priest built an altar according to all that king Ahaz had sent from Damascus: so Urijah the priest made it against king Ahaz came from Damascus. %%% Awo Uliya kabona n'azimba ekyoto nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweezeza ng'ayima e Ddamasiko bw'atyo Uliya kabona bwe yakikola kabaka Akazi akisange ng'avudde e Ddamasiko. 12K2I016.012 And when the king was come from Damascus, the king saw the altar: and the king approached to the altar, and offered thereon. %%% Awo kabaka bwe yajja okuva e Ddamasiko, kabaka n’alaba ekyoto: kabaka n'asemberera ekyoto n'eweerayo ku kyo saddaaka. 12K2I016.013 And he burnt his burnt offering and his meat offering, and poured his drink offering, and sprinkled the blood of his peace offerings, upon the altar. %%% N'ayokya ekyo kye yawaayo ekyokebwa n'ekyo kye yawaayo eky'obutta n'afuka ekyo kye yawaayo ekyokunywa, n'amansira omusaayi gw'ebyo bye yawaayo olw'emirembe ku kyoto. 12K2I016.014 And he brought also the brasen altar, which was before the LORD, from the forefront of the house, from between the altar and the house of the LORD, and put it on the north side of the altar. %%% Era ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama n'akiggya mu bwenyi bw'ennyumba wakati w'ekyoto kye n'ennyumba ya Mukama, n'akiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'ekyoto kye. 12K2I016.015 And king Ahaz commanded Urijah the priest, saying, Upon the great altar burn the morning burnt offering, and the evening meat offering, and the king's burnt sacrifice, and his meat offering, with the burnt offering of all the people of the land, and their meat offering, and their drink offerings; and sprinkle upon it all the blood of the burnt offering, and all the blood of the sacrifice: and the brasen altar shall be for me to enquire by. %%% Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona ng'ayogera nti Oyokeranga ku kyoto ekinene ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya n'ekiweebwayo eky'obutta eky'akawungeezi n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya kabaka n'ekikye ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu bonna ab'omu nsi eyo n'ekyabwe ekiweebwayo eky'obutta n'ebyabwe ebiweebwayo ebyokunywa; omansirangako omusaayi gwonna ogw'ekiweebwayo ekyokebwa n'omusaayi gwonna ogwa saddaaka: naye ekyoto eky'ekikomo kinaabanga kya kulagulirako gye ndi. 12K2I016.016 Thus did Urijah the priest, according to all that king Ahaz commanded. %%% Bw'atyo Uliya kabona n'akola nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yalagira. 12K2I016.017 And king Ahaz cut off the borders of the bases, and removed the laver from off them; and took down the sea from off the brasen oxen that were under it, and put it upon a pavement of stones. %%% Awo kabaka Akazi n'asalako emigo gy'entebe n'aggya ekinaabirwamu ku zo; n'assa ennyanja ng'agiggya ku ntebe ez'ebikomo ezaali wansi waayo, n'agiteeka ku mayinja amaaliire. 12K2I016.018 And the covert for the sabbath that they had built in the house, and the king's entry without, turned he from the house of the LORD for the king of Assyria. %%% N'ekkubo eryabikkibwako erya ssabbiiti lye baali bazimbye mu nnyumba n'omulyango gwa kabaka ebweru n'alyetoolooza ennyumba ya Mukama olwa kabaka w'e Bwasuli. 12K2I016.019 Now the rest of the acts of Ahaz which he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akazi bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I016.020 And Ahaz slept with his fathers, and was buried with his fathers in the city of David: and Hezekiah his son reigned in his stead. %%% Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Keezeekiya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I017.001 In the twelfth year of Ahaz king of Judah began Hoshea the son of Elah to reign in Samaria over Israel nine years. %%% Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Akazi kabaka wa Yuda Koseya mutabani wa Era n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka mwenda. 12K2I017.002 And he did that which was evil in the sight of the LORD, but not as the kings of Israel that were before him. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, era naye nga tabenkana bassekabaka ba Isiraeri abaamusooka. 12K2I017.003 Against him came up Shalmaneser king of Assyria; and Hoshea became his servant, and gave him presents. %%% Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n'amutabaala; Koseya n'afuuka muddu we n'amuleeteranga ebirabo. 12K2I017.004 And the king of Assyria found conspiracy in Hoshea: for he had sent messengers to So king of Egypt, and brought no present to the king of Assyria, as he had done year by year: therefore the king of Assyria shut him up, and bound him in prison. %%% kabaka w'e Bwasuli n'alaba olukwe mu Koseya; kubanga yali atumidde So kabaka w'e Misiri ababaka, n'atawa kabaka w'e Bwasuli kirabo nga bwe yakolanga buli mwaka: kabaka w'e Bwasuli kyeyava amuteeka mu kkomera n'amusiba. 12K2I017.005 Then the king of Assyria came up throughout all the land, and went up to Samaria, and besieged it three years. %%% Awo kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ensi yonna n'ayambuka e Samaliya n'akizingiriza emyaka esatu. 12K2I017.006 In the ninth year of Hoshea the king of Assyria took Samaria, and carried Israel away into Assyria, and placed them in Halah and in Habor by the river of Gozan, and in the cities of the Medes. %%% Mu mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka w'e Bwasuli n'amenya Samaliya, n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani ne mu bibuga eby'Abameedi. 12K2I017.007 For so it was, that the children of Israel had sinned against the LORD their God, which had brought them up out of the land of Egypt, from under the hand of Pharaoh king of Egypt, and had feared other gods, %%% Awo ne kiba bwe kityo kubanga abaana ba Isiraeri baali boonoonye Mukama Katonda waabwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuva wansi w'omukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, ne batya bakatonda abalala, 12K2I017.008 And walked in the statutes of the heathen, whom the LORD cast out from before the children of Israel, and of the kings of Israel, which they had made. %%% ne batambulira mu mateeka g'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri ne mu ga bassekabaka ba Isiraeri, ge baateeka. 12K2I017.009 And the children of Israel did secretly those things that were not right against the LORD their God, and they built them high places in all their cities, from the tower of the watchmen to the fenced city. %%% Era abaana ba Isiraeri ne bakolanga kyama ebigambo ebitali birungi eri Mukama Katonda waabwe, ne beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, mu kigo eky'omukuumi era ne mu kibuga ekiriko enkomera. 12K2I017.010 And they set them up images and groves in every high hill, and under every green tree: %%% Era ne beesimbira empagi ne Baasera ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi: 12K2I017.011 And there they burnt incense in all the high places, as did the heathen whom the LORD carried away before them; and wrought wicked things to provoke the LORD to anger: %%% ne bootererezanga eyo obubaane ku bifo byonna ebigulumivu ng'amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yaggyawo okubasooka; ne bakolanga eby'ekyejo okusunguwaza Mukama: 12K2I017.012 For they served idols, whereof the LORD had said unto them, Ye shall not do this thing. %%% ne baweerezanga ebifaananyi Mukama bye yabagambako nti Temukolanga kigambo kino. 12K2I017.013 Yet the LORD testified against Israel, and against Judah, by all the prophets, and by all the seers, saying, Turn ye from your evil ways, and keep my commandments and my statutes, according to all the law which I commanded your fathers, and which I sent to you by my servants the prophets. %%% Era naye Mukama n'ategeerezanga Isiraeri ne Yuda mu mukono gwa buli nnabbi n'ogwa buli mulabi ng'ayogera nti Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n'amateeka gange ng'amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe era ge nnabaweereza mu mukono gw'abaddu bange bannabbi. 12K2I017.014 Notwithstanding they would not hear, but hardened their necks, like to the neck of their fathers, that did not believe in the LORD their God. %%% Era naye ne bataganya kuwulira naye ne bakakanyazanga ensingo yaabwe ng'ensingo ya bajjajjaabwe abatakkiriza Mukama Katonda waabwe. 12K2I017.015 And they rejected his statutes, and his covenant that he made with their fathers, and his testimonies which he testified against them; and they followed vanity, and became vain, and went after the heathen that were round about them, concerning whom the LORD had charged them, that they should not do like them. %%% Ne bagaananga amateeka ge n'endagaano ye gye yalagaana ne bajjajjaabwe n'ebyo bye yategeeza gye bali; ne bagobereranga ebirerya ne bafuukanga ba birerya, ne bagobereranga amawanga agabeetoolodde, Mukama ge yabakuutirako baleme okukola okubafaanananga. 12K2I017.016 And they left all the commandments of the LORD their God, and made them molten images, even two calves, and made a grove, and worshipped all the host of heaven, and served Baal. %%% Awo ne baleka ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ennyana bbiri, ne bakola Asera, ne basinzanga eggye lyonna ery'omu ggulu, ne baweerezanga Baali. 12K2I017.017 And they caused their sons and their daughters to pass through the fire, and used divination and enchantments, and sold themselves to do evil in the sight of the LORD, to provoke him to anger. %%% Ne bayisanga abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala mu muliro, ne bakola eby'obufumu n'eby'obulogo, ne beetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, okumusunguwaza. 12K2I017.018 Therefore the LORD was very angry with Israel, and removed them out of his sight: there was none left but the tribe of Judah only. %%% Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isiraeri n'abaggya mu maaso ge: tewaali eyasigalawo wabula ekika kya Yuda kyokka. 12K2I017.019 Also Judah kept not the commandments of the LORD their God, but walked in the statutes of Israel which they made. %%% Era ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, naye ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka. 12K2I017.020 And the LORD rejected all the seed of Israel, and afflicted them, and delivered them into the hand of spoilers, until he had cast them out of his sight. %%% Mukama n'agaana ezzadde lyonna erya Isiraeri n'ababoonyaboanyanga n'abagabula mu mukono gw'abanyazi okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge. 12K2I017.021 For he rent Israel from the house of David; and they made Jeroboam the son of Nebat king: and Jeroboam drave Israel from following the LORD, and made them sin a great sin. %%% Kubanga yayuzaamu Isiraeri okubaggya ku nnyumba ya Dawudi; ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka: Yerobowaamu n'agoba Isiraeri obutagoberera Mukama, n'aboonoonyesa okwonoona okunene. 12K2I017.022 For the children of Israel walked in all the sins of Jeroboam which he did; they departed not from them; %%% Awo abaana ba Isiraeri ne batambuliranga mu bibi byonna ebya Yerobowaamu bye yakola; tebabivangamu; 12K2I017.023 Until the LORD removed Israel out of his sight, as he had said by all his servants the prophets. So was Israel carried away out of their own land to Assyria unto this day. %%% okutuusa Mukama lwe yaggya Isiraeri mu maaso ge nga bwe yayogera n'omukono gw'abaddu be bonna bannabbi. Awo Isiraeri ne batwalirwa ddala okuva mu nsi yaabwe mu Bwasuli ne leero. 12K2I017.024 And the king of Assyria brought men from Babylon, and from Cuthah, and from Ava, and from Hamath, and from Sepharvaim, and placed them in the cities of Samaria instead of the children of Israel: and they possessed Samaria, and dwelt in the cities thereof. %%% Awo kabaka w'e Bwasuli n'aleeta abantu ng'abaggya e Babulooni ne Kusa ne Ava ne Kamasi ne Sefavayimu, n'abateeka mu bibuga eby'e Samaliya mu kifo ky'abaana ba Isiraeri: ne balya Samaliya ne batuula mu bibuga byayo. 12K2I017.025 And so it was at the beginning of their dwelling there, that they feared not the LORD: therefore the LORD sent lions among them, which slew some of them. %%% Awo olwatuuka bwe baasooka okutuula omwo ne batatya Mukama: Mukama kyeyava asindika mu bo empologoma ne zibattako abamu. 12K2I017.026 Wherefore they spake to the king of Assyria, saying, The nations which thou hast removed, and placed in the cities of Samaria, know not the manner of the God of the land: therefore he hath sent lions among them, and, behold, they slay them, because they know not the manner of the God of the land. %%% Kyebaava bagamba kabaka w'e Bwasuli nga boogera nti Amawanga ge watwalira ddala n'obateeka mu bibuga eby'e Samaliya tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi: kyeyava asindika mu bo empologoma, era, laba, zibatta kubanga tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi. 12K2I017.027 Then the king of Assyria commanded, saying, Carry thither one of the priests whom ye brought from thence; and let them go and dwell there, and let him teach them the manner of the God of the land. %%% Awo kabaka w'e Bwasuli n'alagira ng'ayogera nti Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo, bagende babeere eyo, abayigirize empisa ya Katonda ow'omu nsi. 12K2I017.028 Then one of the priests whom they had carried away from Samaria came and dwelt in Bethel, and taught them how they should fear the LORD. %%% Awo omu ku bakabona be baggya mu Samaliya n'ajja n'abeera e Beseri n’abayigiriza bwe kibagwanira okutyanga Mukama. 12K2I017.029 Howbeit every nation made gods of their own, and put them in the houses of the high places which the Samaritans had made, every nation in their cities wherein they dwelt. %%% Naye buli ggwanga ne beekoleranga bakatonda baabwe bo ne babateeka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu Abasamaliya bye baali bakoze, buli ggwanga mu bibuga byabwe mwe baabeera. 12K2I017.030 And the men of Babylon made Succothbenoth, and the men of Cuth made Nergal, and the men of Hamath made Ashima, %%% Abasajja ab'e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab'e Kuusi ne bakola Nerugali, abasajja ab'e Kamasi ne bakola Asima, 12K2I017.031 And the Avites made Nibhaz and Tartak, and the Sepharvites burnt their children in fire to Adrammelech and Anammelech, the gods of Sepharvaim. %%% Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookeranga abaana baabwe mu muliro eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 12K2I017.032 So they feared the LORD, and made unto themselves of the lowest of them priests of the high places, which sacrificed for them in the houses of the high places. %%% Awo ne batyanga Mukama ne beeyawulira bakabona b'ebifo ebigulumivu nga babaggya mu bo bennyini, abaabaweerangayo ssaddaaka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu. 12K2I017.033 They feared the LORD, and served their own gods, after the manner of the nations whom they carried away from thence. %%% Ne batyanga Mukama, ne baweerezanga bakatonda baabwe bo ng'engeri bwe yali ey'amawanga ge baggibwamu okutwalibwa. 12K2I017.034 Unto this day they do after the former manners: they fear not the LORD, neither do they after their statutes, or after their ordinances, or after the law and commandment which the LORD commanded the children of Jacob, whom he named Israel; %%% Baakola na buli kati ng'empisa ez'edda bwe zaali: tebaatyanga Mukama so tebaakolanga ng'amateeka gaabwe bwe gaali newakubadde nga bwe baalagirwa newakubadde ng'etteeka n'ebiragiro bwe biri Mukama bye yalagira abaana ba Yakobo gwe yatuuma Isiraeri; 12K2I017.035 With whom the LORD had made a covenant, and charged them, saying, Ye shall not fear other gods, nor bow yourselves to them, nor serve them, nor sacrifice to them: %%% Mukama gwe yali alagaanye naye endagaano n'abakuutira ng'ayogera nti Temutyanga bakatonda abalala, so temubakutamiranga, so temubaweerezanga, so temuwangayo ssaddaaka eri bo: 12K2I017.036 But the LORD, who brought you up out of the land of Egypt with great power and a stretched out arm, him shall ye fear, and him shall ye worship, and to him shall ye do sacrifice. %%% naye Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogwagololwa oyo gwe mubanga mutya era oyo gwe mubanga mukutamira, era eri oyo gye mubanga muwa ssaddaaka: 12K2I017.037 And the statutes, and the ordinances, and the law, and the commandment, which he wrote for you, ye shall observe to do for evermore; and ye shall not fear other gods. %%% n'amateeka ne bye mwalagirwa ne tawuleti n'ekiragiro kye yabawandiikira, munaabikwatanga okubikola ennaku zonna; so temutyanga bakatonda abalala: 12K2I017.038 And the covenant that I have made with you ye shall not forget; neither shall ye fear other gods. %%% n'endagaano gye ndagaanye nammwe temugyerabiranga; so temutyanga bakatonda abalala: 12K2I017.039 But the LORD your God ye shall fear; and he shall deliver you out of the hand of all your enemies. %%% naye Mukama Katonda wammwe gwe mubanga mutya; era ye anaabalokolanga mu mukono gw'abalabe bammwe bonna. 12K2I017.040 Howbeit they did not hearken, but they did after their former manner. %%% Era naye ne batawulira naye ne bakola ng'empisa yaabwe ey'edda bwe yali. 12K2I017.041 So these nations feared the LORD, and served their graven images, both their children, and their children's children: as did their fathers, so do they unto this day. %%% Awo amawanga gano ne gatya Mukama ne baweereza ebifaananyi byabwe ebyole; era n'abaana baabwe bwe batyo n'abaana b'abaana baabwe, nga bajjajjaabwe bwe baakolanga, bwe batyo bwe baakola na buli kati. 12K2I018.001 Now it came to pass in the third year of Hoshea son of Elah king of Israel, that Hezekiah the son of Ahaz king of Judah began to reign. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okusatu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda n'atanula okufuga. 12K2I018.002 Twenty and five years old was he when he began to reign; and he reigned twenty and nine years in Jerusalem. His mother's name also was Abi, the daughter of Zachariah. %%% Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya. 12K2I018.003 And he did that which was right in the sight of the LORD, according to all that David his father did. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Dawudi bye yakolanga. 12K2I018.004 He removed the high places, and brake the images, and cut down the groves, and brake in pieces the brasen serpent that Moses had made: for unto those days the children of Israel did burn incense to it: and he called it Nehushtan. %%% Yaggyawo ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n'atemera ddala Baasera: n'amenyamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola; kubanga okutuusa mu biro ebyo abaana ba Isiraeri nga bagwoterereza obubaane; n'aguyita nti Kikomo bukomo. 12K2I018.005 He trusted in the LORD God of Israel; so that after him was none like him among all the kings of Judah, nor any that were before him. %%% Yeesiga Mukama Katonda wa Isiraeri; awo oluvannyuma lwe ne wataba amufaanana mu bakabaka bonna aba Yuda so si mu abo abaamusooka. 12K2I018.006 For he clave to the LORD, and departed not from following him, but kept his commandments, which the LORD commanded Moses. %%% Kubanga yeegatta ne Mukama, teyaleka kumugoberera naye n'akwata ebiragiro bye Mukama bye yalagira Musa. 12K2I018.007 And the LORD was with him; and he prospered whithersoever he went forth: and he rebelled against the king of Assyria, and served him not. %%% Awo Mukama n'abanga naye; buli gye yafulumanga yonna n'alabanga omukisa: n'ajeemera kabaka w'e Bwasuli n'atamuweereza. 12K2I018.008 He smote the Philistines, even unto Gaza, and the borders thereof, from the tower of the watchmen to the fenced city. %%% N'akuba Abafirisuuti okubatuusa e Gaza n'ensalo zaakyo, ekigo eky'omukuumi era n'ekibuga ekiriko enkomera. 12K2I018.009 And it came to pass in the fourth year of king Hezekiah, which was the seventh year of Hoshea son of Elah king of Israel, that Shalmaneser king of Assyria came up against Samaria, and besieged it. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Samaliya n'kizingiza. 12K2I018.010 And at the end of three years they took it: even in the sixth year of Hezekiah, that is the ninth year of Hoshea king of Israel, Samaria was taken. %%% Awo emyaka esatu bwe gyayitawo ne bakimenya: mu mwaka ogw'omukaaga ogwa Keezekiya, gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri, Samaliya ne kimenyebwa. 12K2I018.011 And the king of Assyria did carry away Israel unto Assyria, and put them in Halah and in Habor by the river of Gozan, and in the cities of the Medes: %%% Awo kabaka w'e Bwasuli n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani, ne mu bibuga eby'Abameedi: 12K2I018.012 Because they obeyed not the voice of the LORD their God, but transgressed his covenant, and all that Moses the servant of the LORD commanded, and would not hear them, nor do them. %%% kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye ne basobya endagaano ye, byonna Musa omuddu wa Mukama bye yalagira, ne batakkiriza kubiwulira newakubadde okubikola. 12K2I018.013 Now in the fourteenth year of king Hezekiah did Sennacherib king of Assyria come up against all the fenced cities of Judah, and took them. %%% Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n'abimenya. 12K2I018.014 And Hezekiah king of Judah sent to the king of Assyria to Lachish, saying, I have offended; return from me: that which thou puttest on me will I bear. And the king of Assyria appointed unto Hezekiah king of Judah three hundred talents of silver and thirty talents of gold. %%% Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n'atumira kabaka w'e Bwasuli e Lakisi ng'ayogera nti Nnyonoonye; ddayo onveeko: by'ononsalira nnaabikkiriza. Kabaka w'e Bwasuli n'asalira Keezeekiya kabaka wa Yuda effeeza talanta ebikumi bisatu n'ezaabu talanta amakumi asatu. 12K2I018.015 And Hezekiah gave him all the silver that was found in the house of the LORD, and in the treasures of the king's house. %%% Era Keezeekiya n'amuwa effeeza yonna eyalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka. 12K2I018.016 At that time did Hezekiah cut off the gold from the doors of the temple of the LORD, and from the pillars which Hezekiah king of Judah had overlaid, and gave it to the king of Assyria. %%% Mu biro ebyo Keezeekiya n'asala ezaabu ku nzigi za yeekaalu ya Mukama ne kumpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda ze yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli. 12K2I018.017 And the king of Assyria sent Tartan and Rabsaris and Rabshakeh from Lachish to king Hezekiah with a great host against Jerusalem. And they went up and came to Jerusalem. And when they were come up, they came and stood by the conduit of the upper pool, which is in the highway of the fuller's field. %%% Awo kabaka w'e Bwasuli n'atuma Talutani ne Labusalisi ne Labusake ng'ayima e Lakisi eri kabaka Keezeekiya, nga balina eggye lingi, e Yerusaalemi. Ne batabaala ne bajja e Yerusaalemi. Awo nga batabadde ne bajja ne bayimirira awali olusalosalo olw'ekidiba ekyengulu ekiri mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye. 12K2I018.018 And when they had called to the king, there came out to them Eliakim the son of Hilkiah, which was over the household, and Shebna the scribe, and Joah the son of Asaph the recorder. %%% Awo bwe baayita kabaka, ne wafuluma eri bo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza. 12K2I018.019 And Rabshakeh said unto them, Speak ye now to Hezekiah, Thus saith the great king, the king of Assyria, What confidence is this wherein thou trustest? %%% Awo Labusake n'abagamba nti Mugambe nno Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli nti Bwesige ki buno bwe weesiga? nti 12K2I018.020 Thou sayest, (but they are but vain words,) I have counsel and strength for the war. Now on whom dost thou trust, that thou rebellest against me? %%% Oyogera, naye bigambo bya mu kamwa bumwa, nti Waliwo amagezi n'amaanyi ag'okulwana: Ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera? 12K2I018.021 Now, behold, thou trustest upon the staff of this bruised reed, even upon Egypt, on which if a man lean, it will go into his hand, and pierce it: so is Pharaoh king of Egypt unto all that trust on him. %%% Laba nno weesiga omuggo ogw'olumuli luno olwatifu, ye Misiri; omuntu bw'aneesigama okwo, lunaayingira mu mukono gwe ne lugufumita: bw'atyo Falaawo kabaka w'e Misiri bw'ali eri abo bonna abamwesiga. 12K2I018.022 But if ye say unto me, We trust in the LORD our God: is not that he, whose high places and whose altars Hezekiah hath taken away, and hath said to Judah and Jerusalem, Ye shall worship before this altar in Jerusalem? %%% Naye bwe munaŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gw'aggidewo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino mu Yerusaalemi? 12K2I018.023 Now therefore, I pray thee, give pledges to my lord the king of Assyria, and I will deliver thee two thousand horses, if thou be able on thy part to set riders upon them. %%% Kale nno, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli, nange naakuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe ku bubwo bw'onooyinza okuziteekako abazeebagala. 12K2I018.024 How then wilt thou turn away the face of one captain of the least of my master's servants, and put thy trust on Egypt for chariots and for horsemen? %%% Kale onooyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi. 12K2I018.025 Am I now come up without the LORD against this place to destroy it? The LORD said to me, Go up against this land, and destroy it. %%% Nze ntabadde ekifo kino kaakano awatali Mukama okukizikiriza? Mukama ye yaŋŋamba nti Tabaala ensi eno ogizikirize. 12K2I018.026 Then said Eliakim the son of Hilkiah, and Shebna, and Joah, unto Rabshakeh, Speak, I pray thee, to thy servants in the Syrian language; for we understand it: and talk not with us in the Jews' language in the ears of the people that are on the wall. %%% Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulutegeera: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe. 12K2I018.027 But Rabshakeh said unto them, Hath my master sent me to thy master, and to thee, to speak these words? hath he not sent me to the men which sit on the wall, that they may eat their own dung, and drink their own piss with you? %%% Naye Labusake n'abagamba nti Mukama wange yantumira mukama wo naawe okwogera ebigambo bino? tantumidde basajja abatuula ku bbugwe, okulya amazi gaabwe bo n'okunywera enkali yaabwe bo wamu nammwe? 12K2I018.028 Then Rabshakeh stood and cried with a loud voice in the Jews' language, and spake, saying, Hear the word of the great king, the king of Assyria: %%% Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli. 12K2I018.029 Thus saith the king, Let not Hezekiah deceive you: for he shall not be able to deliver you out of his hand: %%% Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza kubalokola mu mukono gwe: 12K2I018.030 Neither let Hezekiah make you trust in the LORD, saying, The LORD will surely deliver us, and this city shall not be delivered into the hand of the king of Assyria. %%% so Keezeekiya tabeesizanga Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutulokola, n'ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli. 12K2I018.031 Hearken not to Hezekiah: for thus saith the king of Assyria, Make an agreement with me by a present, and come out to me, and then eat ye every man of his own vine, and every one of his fig tree, and drink ye every one the waters of his cistern: %%% Temuwulirizanga Keezeekiya: kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti Mutabagane nange mufulume gye ndi; ne mulya buli muntu ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, ne munywa buli muntu amazzi ag'omu kidiba kye ye; 12K2I018.032 Until I come and take you away to a land like your own land, a land of corn and wine, a land of bread and vineyards, a land of oil olive and of honey, that ye may live, and not die: and hearken not unto Hezekiah, when he persuadeth you, saying, The LORD will deliver us. %%% okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta aga zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwulirizanga Keezeekiya bw'alibasendasenda ng'ayogera nti Mukama alitulokola. 12K2I018.033 Hath any of the gods of the nations delivered at all his land out of the hand of the king of Assyria? %%% Waliwo katonda yenna ku bakatonda b'amawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 12K2I018.034 Where are the gods of Hamath, and of Arpad? where are the gods of Sepharvaim, Hena, and Ivah? have they delivered Samaria out of mine hand? %%% Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab'e Kena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange? 12K2I018.035 Who are they among all the gods of the countries, that have delivered their country out of mine hand, that the LORD should deliver Jerusalem out of mine hand? %%% Baani ku bakatonda bonna ab'ensi abaalokola ensi yaabwe mu mukono gwange, Mukama alokole Yerusaalemi mu mukono gwange? 12K2I018.036 But the people held their peace, and answered him not a word: for the king's commandment was, saying, Answer him not. %%% Naye abantu ne basirika ne batamuddamu kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kityo nti Temumuddamu. 12K2I018.037 Then came Eliakim the son of Hilkiah, which was over the household, and Shebna the scribe, and Joah the son of Asaph the recorder, to Hezekiah with their clothes rent, and told him the words of Rabshakeh. %%% Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake. 12K2I019.001 And it came to pass, when king Hezekiah heard it, that he rent his clothes, and covered himself with sackcloth, and went into the house of the LORD. %%% Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza ebyambalo bye ne yeesiiga evvu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama. 12K2I019.002 And he sent Eliakim, which was over the household, and Shebna the scribe, and the elders of the priests, covered with sackcloth, to Isaiah the prophet the son of Amoz. %%% N'atuma Eriyakimu eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona nga bambadde ebibukutu eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. 12K2I019.003 And they said unto him, Thus saith Hezekiah, This day is a day of trouble, and of rebuke, and blasphemy; for the children are come to the birth, and there is not strength to bring forth. %%% Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa buyinike era lwa kunenyezebwa era lwa kuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala. 12K2I019.004 It may be the LORD thy God will hear all the words of Rabshakeh, whom the king of Assyria his master hath sent to reproach the living God; and will reprove the words which the LORD thy God hath heard: wherefore lift up thy prayer for the remnant that are left. %%% Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo byonna ebya Labusake kabaka w'e Bwasuli mukama we gwe yatuma okuvuma Katonda omulamu, era n'anenya ebigambo Mukama Katonda wo by'awulidde: kale yimusa okusaba kwo ku lwabo abasigadde. 12K2I019.005 So the servants of king Hezekiah came to Isaiah. %%% Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya. 12K2I019.006 And Isaiah said unto them, Thus shall ye say to your master, Thus saith the LORD, Be not afraid of the words which thou hast heard, with which the servants of the king of Assyria have blasphemed me. %%% Awo Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe muba mugamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde abaddu ba kabaka w'e Bwasuli kye banzivodde. 12K2I019.007 Behold, I will send a blast upon him, and he shall hear a rumour, and shall return to his own land; and I will cause him to fall by the sword in his own land. %%% Laba, naateeka omwoyo mu ye, kale anaawulira ekigambo n'addayo mu nsi ye; nange ndimugwisa n'ekitala mu nsi ye ye. 12K2I019.008 So Rabshakeh returned, and found the king of Assyria warring against Libnah: for he had heard that he was departed from Lachish. %%% Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde ng'avudde ku Lakisi. 12K2I019.009 And when he heard say of Tirhakah king of Ethiopia, Behold, he is come out to fight against thee: he sent messengers again unto Hezekiah, saying, %%% Awo bwe yawulira nga boogera ku Tiraka kabaka w'e Esiyoopya nti Laba, atabadde okulwana naawe: n'atumira nate Keezeekiya ababaka ng'ayogera nti 12K2I019.010 Thus shall ye speak to Hezekiah king of Judah, saying, Let not thy God in whom thou trustest deceive thee, saying, Jerusalem shall not be delivered into the hand of the king of Assyria. %%% Bwe mutyo bwe muba mugamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli. 12K2I019.011 Behold, thou hast heard what the kings of Assyria have done to all lands, by destroying them utterly: and shalt thou be delivered? %%% Laba, wawulira bakabaka b'e Bwasuli bye baakola ensi zonna nga bazizikiririza ddala, naawe olirokoka? 12K2I019.012 Have the gods of the nations delivered them which my fathers have destroyed; as Gozan, and Haran, and Rezeph, and the children of Eden which were in Thelasar? %%% Bakatonda b'amawanga baabalokola abo bajjajjange be baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abaana ba Edeni abali mu Terasali? 12K2I019.013 Where is the king of Hamath, and the king of Arpad, and the king of the city of Sepharvaim, of Hena, and Ivah? %%% Kabaka w'e Kamasi ali ludda wa ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Kena n'ow'e Yiva? 12K2I019.014 And Hezekiah received the letter of the hand of the messengers, and read it: and Hezekiah went up into the house of the LORD, and spread it before the LORD. %%% Awo Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: awo Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 12K2I019.015 And Hezekiah prayed before the LORD, and said, O LORD God of Israel, which dwellest between the cherubims, thou art the God, even thou alone, of all the kingdoms of the earth; thou hast made heaven and earth. %%% Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi. 12K2I019.016 LORD, bow down thine ear, and hear: open, LORD, thine eyes, and see: and hear the words of Sennacherib, which hath sent him to reproach the living God. %%% Tega okutu kwo, ai Mukama, owulire; zibula amaaso go; ai Mukama, olabe: owulire ebigambo bya Sennakeribu by'amutumye okuvuma Katonda omulamu. 12K2I019.017 Of a truth, LORD, the kings of Assyria have destroyed the nations and their lands, %%% Mazima, Mukama, bakabaka b'e Bwasuli baazikiriza amawanga n'ensi zaabwe, 12K2I019.018 And have cast their gods into the fire: for they were no gods, but the work of men's hands, wood and stone: therefore they have destroyed them. %%% era baasuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda naye mulimu gwa mikono gya bantu, emiti n'amayinja; kyebaava babazikiriza. 12K2I019.019 Now therefore, O LORD our God, I beseech thee, save thou us out of his hand, that all the kingdoms of the earth may know that thou art the LORD God, even thou only. %%% Kale nno, ai Mukama Katonda waffe, tulokole, nkwegayiridde, mu mukono gwe obwakabaka bwonna obw'ensi bamanye nga ggwe Mukama Katonda, ggwe wekka. 12K2I019.020 Then Isaiah the son of Amoz sent to Hezekiah, saying, Thus saith the LORD God of Israel, That which thou hast prayed to me against Sennacherib king of Assyria I have heard. %%% Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga onsabye olwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, nkuwulidde. 12K2I019.021 This is the word that the LORD hath spoken concerning him; The virgin the daughter of Zion hath despised thee, and laughed thee to scorn; the daughter of Jerusalem hath shaken her head at thee. %%% Kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: nti Omuwala wa Sayuuni atamanyanga musajja akunyoomye, akusekeredde; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe. 12K2I019.022 Whom hast thou reproached and blasphemed? and against whom hast thou exalted thy voice, and lifted up thine eyes on high? even against the Holy One of Israel. %%% Ani gw'ovumye gw'ovodde? ani gw'ogulumirizzaako eddoboozi lyo n'oyimusa waggulu amaaso go? ku Mutukuvu owa Isiraeri. 12K2I019.023 By thy messengers thou hast reproached the LORD, and hast said, With the multitude of my chariots I am come up to the height of the mountains, to the sides of Lebanon, and will cut down the tall cedar trees thereof, and the choice fir trees thereof: and I will enter into the lodgings of his borders, and into the forest of his Carmel. %%% Ovumidde Mukama mu babaka bo n'oyogera nti Nninnye ku ntiko y'ensozi n'olufulube lw'amagaali gange, ku njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditema emivule gyako emiwanvu n'emiberosi gyako egisinga obulungi: era ndiyingira mu kisulo kyako ekikomereddeyo, mu kibira eky'ennimiro yaako engimu. 12K2I019.024 I have digged and drunk strange waters, and with the sole of my feet have I dried up all the rivers of besieged places. %%% Nsimye, nnywedde amazzi ag'abannaggwanga, era ndikaza n'ebigere byange emigga gyonna egy'e Misiri: 12K2I019.025 Hast thou not heard long ago how I have done it, and of ancient times that I have formed it? now have I brought it to pass, that thou shouldest be to lay waste fenced cities into ruinous heaps. %%% Tewawulira bwe nnakikola edda, ne nkibumba okuva mu biro eby'edda? kaakano nkituukirizza obeere wa kuzikiriza bibuga ebiriko enkomera n'obifuula ebifunvu eby'amatongo. 12K2I019.026 Therefore their inhabitants were of small power, they were dismayed and confounded; they were as the grass of the field, and as the green herb, as the grass on the house tops, and as corn blasted before it be grown up. %%% Ababituulamu kyebava babeera n'amaanyi amatono, ne batekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu ttale era ng'omuddo omubisi, ng'essubi eriri waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula. 12K2I019.027 But I know thy abode, and thy going out, and thy coming in, and thy rage against me. %%% Naye mmanyi okutuula kwo n'okufuluma kwo n'okuyingira kwo ne bw'ondalukira. 12K2I019.028 Because thy rage against me and thy tumult is come up into mine ears, therefore I will put my hook in thy nose, and my bridle in thy lips, and I will turn thee back by the way by which thou camest. %%% Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo zo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, ne nkuddizaayo mu kkubo lye wafulumamu. 12K2I019.029 And this shall be a sign unto thee, Ye shall eat this year such things as grow of themselves, and in the second year that which springeth of the same; and in the third year sow ye, and reap, and plant vineyards, and eat the fruits thereof. %%% Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogw'okusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu. 12K2I019.030 And the remnant that is escaped of the house of Judah shall yet again take root downward, and bear fruit upward. %%% Awo ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emizi wansi ne babala ebibala waggulu. 12K2I019.031 For out of Jerusalem shall go forth a remnant, and they that escape out of mount Zion: the zeal of the LORD of hosts shall do this. %%% Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: obuggya bwa Mukama bulituukiriza ekyo. 12K2I019.032 Therefore thus saith the LORD concerning the king of Assyria, He shall not come into this city, nor shoot an arrow there, nor come before it with shield, nor cast a bank against it. %%% Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako kifunvu. 12K2I019.033 By the way that he came, by the same shall he return, and shall not come into this city, saith the LORD. %%% Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama. 12K2I019.034 For I will defend this city, to save it, for mine own sake, and for my servant David's sake. %%% Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi. 12K2I019.035 And it came to pass that night, that the angel of the LORD went out, and smote in the camp of the Assyrians an hundred fourscore and five thousand: and when they arose early in the morning, behold, they were all dead corpses. %%% Awo olwatuuka ekiro ekyo malayika wa Mukama n'afuluma n’atta mu lusiisira olw'Abasuuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu. 12K2I019.036 So Sennacherib king of Assyria departed, and went and returned, and dwelt at Nineveh. %%% Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve. 12K2I019.037 And it came to pass, as he was worshipping in the house of Nisroch his god, that Adrammelech and Sharezer his sons smote him with the sword: and they escaped into the land of Armenia. And Esarhaddon his son reigned in his stead. %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri ne bamutta n'ekitala: ne baddukira mu nsi y'e Alalati. Esaladoni mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I020.001 In those days was Hezekiah sick unto death. And the prophet Isaiah the son of Amoz came to him, and said unto him, Thus saith the LORD, Set thine house in order; for thou shalt die, and not live. %%% Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama. 12K2I020.002 Then he turned his face to the wall, and prayed unto the LORD, saying, %%% Awo n'akyusiza amaaso ge ku kisenge n'amwegayirira Mukama ng'ayogera nti 12K2I020.003 I beseech thee, O LORD, remember now how I have walked before thee in truth and with a perfect heart, and have done that which is good in thy sight. And Hezekiah wept sore. %%% Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga. 12K2I020.004 And it came to pass, afore Isaiah was gone out into the middle court, that the word of the LORD came to him, saying, %%% Awo olwatuuka Isaaya nga tannafuluma okugenda mu luuyi lw'ekibuga olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti 12K2I020.005 Turn again, and tell Hezekiah the captain of my people, Thus saith the LORD, the God of David thy father, I have heard thy prayer, I have seen thy tears: behold, I will heal thee: on the third day thou shalt go up unto the house of the LORD. %%% Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya : ku lunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama. 12K2I020.006 And I will add unto thy days fifteen years; and I will deliver thee and this city out of the hand of the king of Assyria; and I will defend this city for mine own sake, and for my servant David's sake. %%% Era ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano; era ndirokola ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuuli; era ndirwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi. 12K2I020.007 And Isaiah said, Take a lump of figs. And they took and laid it on the boil, and he recovered. %%% Awo Isaaya n'ayogera nti Muddire ekitole ky'ettiini. Ne bakiddira ne bakiteeka ku jjute, n'awona. 12K2I020.008 And Hezekiah said unto Isaiah, What shall be the sign that the LORD will heal me, and that I shall go up into the house of the LORD the third day? %%% Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Kaluwa akabonero nga Mukama alimponya era nga ndirinnyira mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusatu? 12K2I020.009 And Isaiah said, This sign shalt thou have of the LORD, that the LORD will do the thing that he hath spoken: shall the shadow go forward ten degrees, or go back ten degrees? %%% Isaaya n'ayogera nti Kano ke kaliba akabonero gy'oli akava eri Mukama nga Mukama alikola ekyo ky'ayogedde: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaddayo ennyuma amadaala kkumi? 12K2I020.010 And Hezekiah answered, It is a light thing for the shadow to go down ten degrees: nay, but let the shadow return backward ten degrees. %%% Awo Keezeekiya n'addamu nti Ekisiikirize okukka amadaala kkumi kigambo kyangu: nedda, naye ekisiikirize kiddeyo ennyuma amadaala kkumi, 12K2I020.011 And Isaiah the prophet cried unto the LORD: and he brought the shadow ten degrees backward, by which it had gone down in the dial of Ahaz. %%% Isaaya nnabbi n'akaabirira Mukama: n'azzaayo ennyuma ekisiikirize ebbanga ery'amadaala ekkumi, ge kyali kikkiddeko ku madaala ga Akazi. 12K2I020.012 At that time Berodachbaladan, the son of Baladan, king of Babylon, sent letters and a present unto Hezekiah: for he had heard that Hezekiah had been sick. %%% Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w'e Babulooni n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira Keezeekiya bwe yali alwadde. 12K2I020.013 And Hezekiah hearkened unto them, and shewed them all the house of his precious things, the silver, and the gold, and the spices, and the precious ointment, and all the house of his armour, and all that was found in his treasures: there was nothing in his house, nor in all his dominion, that Hezekiah shewed them not. %%% Awo Keezeekiya n'abawulira n'abalaga ennyumba yonna ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza n'ezaabu n'eby'akaloosa n’amafuta ag'omuwendo omungi n'ennyumba ey'ebyokulwanyisa bye ne byonna ebyalabika mu by'obugagga bwe: tewali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga. 12K2I020.014 Then came Isaiah the prophet unto king Hezekiah, and said unto him, What said these men? and from whence came they unto thee? And Hezekiah said, They are come from a far country, even from Babylon. %%% Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era bavudde wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ey'ewala mu Babulooni. 12K2I020.015 And he said, What have they seen in thine house? And Hezekiah answered, All the things that are in mine house have they seen: there is nothing among my treasures that I have not shewed them. %%% N'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze. 12K2I020.016 And Isaiah said unto Hezekiah, Hear the word of the LORD. %%% Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama. 12K2I020.017 Behold, the days come, that all that is in thine house, and that which thy fathers have laid up in store unto this day, shall be carried into Babylon: nothing shall be left, saith the LORD. %%% Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewali kintu ekirisigala, bw'ayogera Mukama. 12K2I020.018 And of thy sons that shall issue from thee, which thou shalt beget, shall they take away; and they shall be eunuchs in the palace of the king of Babylon. %%% Era balitwala ne ku batabani bo abalikuvaamu b'olizaala: kale baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w'e Babulooni. 12K2I020.019 Then said Hezekiah unto Isaiah, Good is the word of the LORD which thou hast spoken. And he said, Is it not good, if peace and truth be in my days? %%% Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Si weewaawo, emirembe n'amazima bwe binaabangawo ku mirenbe gyange? 12K2I020.020 And the rest of the acts of Hezekiah, and all his might, and how he made a pool, and a conduit, and brought water into the city, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya n’amaanyi ge gonna era bwe yasima ekidiba n'olusalosalo n’aleeta amazzi mu kibuga tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I020.021 And Hezekiah slept with his fathers: and Manasseh his son reigned in his stead. %%% Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Manase mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I021.001 Manasseh was twelve years old when he began to reign, and reigned fifty and five years in Jerusalem. And his mother's name was Hephzibah. %%% Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kefuziba. 12K2I021.002 And he did that which was evil in the sight of the LORD, after the abominations of the heathen, whom the LORD cast out before the children of Israel. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 12K2I021.003 For he built up again the high places which Hezekiah his father had destroyed; and he reared up altars for Baal, and made a grove, as did Ahab king of Israel; and worshipped all the host of heaven, and served them. %%% N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza. 12K2I021.004 And he built altars in the house of the LORD, of which the LORD said, In Jerusalem will I put my name. %%% N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange. 12K2I021.005 And he built altars for all the host of heaven in the two courts of the house of the LORD. %%% Era n'azimbira eggye lyonna ery'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama. 12K2I021.006 And he made his son pass through the fire, and observed times, and used enchantments, and dealt with familiar spirits and wizards: he wrought much wickedness in the sight of the LORD, to provoke him to anger. %%% N'ayisa mu muliro mutabani we, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza. 12K2I021.007 And he set a graven image of the grove that he had made in the house, of which the LORD said to David, and to Solomon his son, In this house, and in Jerusalem, which I have chosen out of all tribes of Israel, will I put my name for ever: %%% N'asimba ekifaananyi ekyole ekya Asera kye yakola mu nnyumba Mukama gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna: 12K2I021.008 Neither will I make the feet of Israel move any more out of the land which I gave their fathers; only if they will observe to do according to all that I have commanded them, and according to all the law that my servant Moses commanded them. %%% so siriwabya nate bigere bya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; kyokka bwe baneekuumanga okukola nga byonna bwe biri bye mbalagidde era ng'amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa ge yabalagira. 12K2I021.009 But they hearkened not: and Manasseh seduced them to do more evil than did the nations whom the LORD destroyed before the children of Israel. %%% Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 12K2I021.010 And the LORD spake by his servants the prophets, saying, %%% Awo Mukama n'ayogerera mu baddu be bannabbi nti 12K2I021.011 Because Manasseh king of Judah hath done these abominations, and hath done wickedly above all that the Amorites did, which were before him, and hath made Judah also to sin with his idols: %%% Kubanga Manase kabaka wa Yuda okoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna Abamoli bye baakola abaamusooka, era ayonoonyesezza ne Yuda n'ebifaananyi bye: 12K2I021.012 Therefore thus saith the LORD God of Israel, Behold, I am bringing such evil upon Jerusalem and Judah, that whosoever heareth of it, both his ears shall tingle. %%% Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli anaabuwuliranga n'okwamirira amatu ge gombi ne gaamirira. 12K2I021.013 And I will stretch over Jerusalem the line of Samaria, and the plummet of the house of Ahab: and I will wipe Jerusalem as a man wipeth a dish, wiping it, and turning it upside down. %%% Era ndireega ku Yerusaalemi omugwa ogw'e Samaliya n'ejjinja erigera ery'ennyumba ya Akabu: era ndisangula Yerusaalemi ng'omuntu bw'asangula essowaani, ng'agisangula era ng'agivunika. 12K2I021.014 And I will forsake the remnant of mine inheritance, and deliver them into the hand of their enemies; and they shall become a prey and a spoil to all their enemies; %%% Era ndisuula ekitundu ekifisseewo eky'obusika bwange ne mbagabula mu mukono gw'abalabe baabwe; kale balifuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna; 12K2I021.015 Because they have done that which was evil in my sight, and have provoked me to anger, since the day their fathers came forth out of Egypt, even unto this day. %%% kubanga bakoze ebiri mu maaso gange ebibi ne bansunguwaza okuva ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviira mu Misiri ne leero. 12K2I021.016 Moreover Manasseh shed innocent blood very much, till he had filled Jerusalem from one end to another; beside his sin wherewith he made Judah to sin, in doing that which was evil in the sight of the LORD. %%% Era nate Manase n'ayiwa omusaayi ogutaliiko musango, mungi nnyo okutuusa lwe yajjuza Yerusaalemi eruuyi n'eruuyi; obutasaako kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Yuda ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. 12K2I021.017 Now the rest of the acts of Manasseh, and all that he did, and his sin that he sinned, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase ne byonna bye yakola n'okwonoona kwe kwe yayonoona tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I021.018 And Manasseh slept with his fathers, and was buried in the garden of his own house, in the garden of Uzza: and Amon his son reigned in his stead. %%% Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I021.019 Amon was twenty and two years old when he began to reign, and he reigned two years in Jerusalem. And his mother's name was Meshullemeth, the daughter of Haruz of Jotbah. %%% Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba. 12K2I021.020 And he did that which was evil in the sight of the LORD, as his father Manasseh did. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakola: 12K2I021.021 And he walked in all the way that his father walked in, and served the idols that his father served, and worshipped them: %%% N'atambulira mu kkubo lyonna kitaawe lye yatambuliramu n'aweereza ebifaananyi kitaawe bye yaweereza n'abisinza: 12K2I021.022 And he forsook the LORD God of his fathers, and walked not in the way of the LORD. %%% n'ava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe n'atatambulira mu kkubo lya Mukama. 12K2I021.023 And the servants of Amon conspired against him, and slew the king in his own house. %%% Abaddu ba Amoni ne bamwekobaana ne battira kabaka mu nnyumba ye ye. 12K2I021.024 And the people of the land slew all them that had conspired against king Amon; and the people of the land made Josiah his son king in his stead. %%% Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye. 12K2I021.025 Now the rest of the acts of Amon which he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amoni bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I021.026 And he was buried in his sepulchre in the garden of Uzza: and Josiah his son reigned in his stead. %%% N'aziikibwa mu ntaana ye mu lusuku lwa Uzza: Yosiya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I022.001 Josiah was eight years old when he began to reign, and he reigned thirty and one years in Jerusalem. And his mother's name was Jedidah, the daughter of Adaiah of Boscath. %%% Yosiya yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi. 12K2I022.002 And he did that which was right in the sight of the LORD, and walked in all the way of David his father, and turned not aside to the right hand or to the left. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono. 12K2I022.003 And it came to pass in the eighteenth year of king Josiah, that the king sent Shaphan the son of Azaliah, the son of Meshullam, the scribe, to the house of the LORD, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya kabaka n'atuma Safani mutabani wa Azaliya mutabani wa Mesullamu omuwandiisi eri ennyumba ya Mukama ng'ayogera nti 12K2I022.004 Go up to Hilkiah the high priest, that he may sum the silver which is brought into the house of the LORD, which the keepers of the door have gathered of the people: %%% Mwambuke eri Kirukiya kabona asinga obukulu, abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu: 12K2I022.005 And let them deliver it into the hand of the doers of the work, that have the oversight of the house of the LORD: and let them give it to the doers of the work which is in the house of the LORD, to repair the breaches of the house, %%% baziweeyo mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama: baziwe abakozi b'emirimu abali mu nnyumba ya Mukama okuddaabiriza ebituli by'ennyumba; 12K2I022.006 Unto carpenters, and builders, and masons, and to buy timber and hewn stone to repair the house. %%% ababazzi n'abazimbi n'abazimbi b'amayinja; era olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddaabiriza ennyumba. 12K2I022.007 Howbeit there was no reckoning made with them of the money that was delivered into their hand, because they dealt faithfully. %%% Naye tebaabalirira muwendo eri abo ogw'effeeza ezaaweebwa mu mukono gwabwe; kubanga baakolanga n'obwesigwa. 12K2I022.008 And Hilkiah the high priest said unto Shaphan the scribe, I have found the book of the law in the house of the LORD. And Hilkiah gave the book to Shaphan, and he read it. %%% Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma. 12K2I022.009 And Shaphan the scribe came to the king, and brought the king word again, and said, Thy servants have gathered the money that was found in the house, and have delivered it into the hand of them that do the work, that have the oversight of the house of the LORD. %%% Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama. 12K2I022.010 And Shaphan the scribe shewed the king, saying, Hilkiah the priest hath delivered me a book. And Shaphan read it before the king. %%% Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka. 12K2I022.011 And it came to pass, when the king had heard the words of the book of the law, that he rent his clothes. %%% Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'ekitabo eky'amateeka, n'ayuza ebyambalo bye. 12K2I022.012 And the king commanded Hilkiah the priest, and Ahikam the son of Shaphan, and Achbor the son of Michaiah, and Shaphan the scribe, and Asahiah a servant of the king's, saying, %%% Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona ne Akikamu mutabani wa Safani ne Akuboli mutabani wa Mikaaya ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka ng'ayogera nti 12K2I022.013 Go ye, enquire of the LORD for me, and for the people, and for all Judah, concerning the words of this book that is found: for great is the wrath of the LORD that is kindled against us, because our fathers have not hearkened unto the words of this book, to do according unto all that which is written concerning us. %%% Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abantu ne Yuda yenna eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obubuubuuse eri ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaawulira bigambo bya kitabo kino okukola nga byonna bwe biri ebyatuwandiikirwa. 12K2I022.014 So Hilkiah the priest, and Ahikam, and Achbor, and Shaphan, and Asahiah, went unto Huldah the prophetess, the wife of Shallum the son of Tikvah, the son of Harhas, keeper of the wardrobe; (now she dwelt in Jerusalem in the college;) and they communed with her. %%% Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akuboli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye. 12K2I022.015 And she said unto them, Thus saith the LORD God of Israel, Tell the man that sent you to me, %%% Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja abatumye gye ndi nti 12K2I022.016 Thus saith the LORD, Behold, I will bring evil upon this place, and upon the inhabitants thereof, even all the words of the book which the king of Judah hath read: %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye: 12K2I022.017 Because they have forsaken me, and have burned incense unto other gods, that they might provoke me to anger with all the works of their hands; therefore my wrath shall be kindled against this place, and shall not be quenched. %%% kubanga banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira. 12K2I022.018 But to the king of Judah which sent you to enquire of the LORD, thus shall ye say to him, Thus saith the LORD God of Israel, As touching the words which thou hast heard; %%% Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nii Olw'ebigambo by'owulidde, 12K2I022.019 Because thine heart was tender, and thou hast humbled thyself before the LORD, when thou heardest what I spake against this place, and against the inhabitants thereof, that they should become a desolation and a curse, and hast rent thy clothes, and wept before me; I also have heard thee, saith the LORD. %%% kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga balifuuka amatongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama. 12K2I022.020 Behold therefore, I will gather thee unto thy fathers, and thou shalt be gathered into thy grave in peace; and thine eyes shall not see all the evil which I will bring upon this place. And they brought the king word again. %%% Laba, kyendiva nkukuŋŋaanya eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo. 12K2I023.001 And the king sent, and they gathered unto him all the elders of Judah and of Jerusalem. %%% Awo kabaka n'atuma, ne bakuŋŋaanyiza gy'ali abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yerusaalemi. 12K2I023.002 And the king went up into the house of the LORD, and all the men of Judah and all the inhabitants of Jerusalem with him, and the priests, and the prophets, and all the people, both small and great: and he read in their ears all the words of the book of the covenant which was found in the house of the LORD. %%% Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi wamu naye ne bakabona ne bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu: n'asoma mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama. 12K2I023.003 And the king stood by a pillar, and made a covenant before the LORD, to walk after the LORD, and to keep his commandments and his testimonies and his statutes with all their heart and all their soul, to perform the words of this covenant that were written in this book. And all the people stood to the covenant. %%% Kabaka n'ayimirira awali empagi n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n'okukwata amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by'endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira okwesibira endagaano. 12K2I023.004 And the king commanded Hilkiah the high priest, and the priests of the second order, and the keepers of the door, to bring forth out of the temple of the LORD all the vessels that were made for Baal, and for the grove, and for all the host of heaven: and he burned them without Jerusalem in the fields of Kidron, and carried the ashes of them unto Bethel. %%% Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab'omutindo ogw'okubiri n'abaggazi, okufulumya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera n'eggye lyonna ery'omu ggulu: n'abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kiduloni, n'evvu lyabyo n'alitwala e Beseri. 12K2I023.005 And he put down the idolatrous priests, whom the kings of Judah had ordained to burn incense in the high places in the cities of Judah, and in the places round about Jerusalem; them also that burned incense unto Baal, to the sun, and to the moon, and to the planets, and to all the host of heaven. %%% N'aggyawo bakabona abaasinza ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterereza obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n'abo abaayotererezanga obubaane Baali n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye n'eggye lyonna ery'omu ggulu. 12K2I023.006 And he brought out the grove from the house of the LORD, without Jerusalem, unto the brook Kidron, and burned it at the brook Kidron, and stamped it small to powder, and cast the powder thereof upon the graves of the children of the people. %%% N'aggya Asera mu nnyumba ya Mukama ebweru wa Yerusaatemi n'akireeta ku kagga Kiduloni n'akyokera ku kagga Kiduloni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n’asuula effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi. 12K2I023.007 And he brake down the houses of the sodomites, that were by the house of the LORD, where the women wove hangings for the grove. %%% N'amenyamenya ennyumba ez'abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa. 12K2I023.008 And he brought all the priests out of the cities of Judah, and defiled the high places where the priests had burned incense, from Geba to Beersheba, and brake down the high places of the gates that were in the entering in of the gate of Joshua the governor of the city, which were on a man's left hand at the gate of the city. %%% N'aggya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda, n'ayonoona ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okuruuka e Beeruseba; n'amenyamenya ebifo ebigulumivu eby'oku nzigi ebyali awayingirirwa mu mulyango gwa Yoswa omukulu w'ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ogw'omuntu awali wankaaki w'ekibuga. 12K2I023.009 Nevertheless the priests of the high places came not up to the altar of the LORD in Jerusalem, but they did eat of the unleavened bread among their brethren. %%% Era naye bakabona ab'ebifo ebigulumivu ne batayambuka eri ekyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, naye ne baliiranga emigaati egitazimbulukuswa mu baganda baabwe. 12K2I023.010 And he defiled Topheth, which is in the valley of the children of Hinnom, that no man might make his son or his daughter to pass through the fire to Molech. %%% Era n'ayonoona Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okuyisa omwana we ow'obulenzi newakubadde ow'obuwala mu muliro eri Moleki. 12K2I023.011 And he took away the horses that the kings of Judah had given to the sun, at the entering in of the house of the LORD, by the chamber of Nathanmelech the chamberlain, which was in the suburbs, and burned the chariots of the sun with fire. %%% N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawadde enjuba, awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyaliraana yeekaalu; n'ayokya amagaali g'enjuba omuliro. 12K2I023.012 And the altars that were on the top of the upper chamber of Ahaz, which the kings of Judah had made, and the altars which Manasseh had made in the two courts of the house of the LORD, did the king beat down, and brake them down from thence, and cast the dust of them into the brook Kidron. %%% N'ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n'ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez'ennyumba ya Mukama, kabaka n'abimenyamenya n'abisindika wansi okubiggyayo, n'asuula enfuufu yaabyo mu kagga Kiduloni. 12K2I023.013 And the high places that were before Jerusalem, which were on the right hand of the mount of corruption, which Solomon the king of Israel had builded for Ashtoreth the abomination of the Zidonians, and for Chemosh the abomination of the Moabites, and for Milcom the abomination of the children of Ammon, did the king defile. %%% N'ebifo ebigulumivu ebyayolekera Yerusaalemi ebyali ku mukono ogwa ddyo ogw'olusozi olw'obwonoonefu, Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yazimbira Asutaloosi omuzizo gw'Abasidoni ne Kemosi omuzizo gwa Mowaabu ne Mirukomu omuzizo gw'abaana ba Amoni, kabaka n'abyonoona. 12K2I023.014 And he brake in pieces the images, and cut down the groves, and filled their places with the bones of men. %%% N'amenyamenya empagi n'atema Baasera n'ajjuza ebifo byabwe amagumba g'abantu. 12K2I023.015 Moreover the altar that was at Bethel, and the high place which Jeroboam the son of Nebat, who made Israel to sin, had made, both that altar and the high place he brake down, and burned the high place, and stamped it small to powder, and burned the grove. %%% Era n'ekyoto ekyali e Beseri n'ekifo ekigulumivu n'abimenyamutabani wa Nebati eyayonoonyesa Isiraeri kye yakola, ekyoto ekyo n'ekifo ekigulumivu n'ebimenyamenya; n'ayokya ekifo ekigulumivu n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n'ayokya Asera. 12K2I023.016 And as Josiah turned himself, he spied the sepulchres that were there in the mount, and sent, and took the bones out of the sepulchres, and burned them upon the altar, and polluted it, according to the word of the LORD which the man of God proclaimed, who proclaimed these words. %%% Awo Yosiya bwe yakebuka n'alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n'atuma n'aggya amagumba mu malaalo n'agookera ku kyoto n'akyonoona ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama omusajja wa Katonda kye yalangira eyalangira ebigambo bino. 12K2I023.017 Then he said, What title is that that I see? And the men of the city told him, It is the sepulchre of the man of God, which came from Judah, and proclaimed these things that thou hast done against the altar of Bethel. %%% Awo n'ayogera nti Kijjukizo ki ekyo kye ndaba? Abasajja ab'omu kibuga ne bamubuulira nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri. 12K2I023.018 And he said, Let him alone; let no man move his bones. So they let his bones alone, with the bones of the prophet that came out of Samaria. %%% N'ayogera nti Mumuleke; omuntu yenna aleme okusimula amagumba ge. Awo ne baleka amagumba ge wamu n'amagumba ga nnabbi eyava mu Samaliya. 12K2I023.019 And all the houses also of the high places that were in the cities of Samaria, which the kings of Israel had made to provoke the Lord to anger, Josiah took away, and did to them according to all the acts that he had done in Bethel. %%% Era n'amasabo gonna ag'ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri ge baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo naakola ag'ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri. 12K2I023.020 And he slew all the priests of the high places that were there upon the altars, and burned men's bones upon them, and returned to Jerusalem. %%% N'attira bakabona bonna ab'ebifo ebigulumivu abali eyo ku byoto, n'abyokerako amagumba g'abantu; n'addayo e Yerusaalemi. 12K2I023.021 And the king commanded all the people, saying, Keep the passover unto the LORD your God, as it is written in the book of this covenant. %%% Awo kabaka n'alagira abantu bonna ng'ayogera nti Mukwate Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino eky'endagaano. 12K2I023.022 Surely there was not holden such a passover from the days of the judges that judged Israel, nor in all the days of the kings of Israel, nor of the kings of Judah; %%% Mazima tebaakwatanga Kuyitako okwenkana awo okuva ku mirembe gy'abalamuzi abaalamula Isiraeri newakubadde mu mirembe gyonna egya bassekabaka ba Isiraeri newakubadde mu gya bassekabaka ba Yuda; 12K2I023.023 But in the eighteenth year of king Josiah, wherein this passover was holden to the LORD in Jerusalem. %%% naye mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya ne bakwata Okuyitako okwo eri Mukama mu Yerusaalemi. 12K2I023.024 Moreover the workers with familiar spirits, and the wizards, and the images, and the idols, and all the abominations that were spied in the land of Judah and in Jerusalem, did Josiah put away, that he might perform the words of the law which were written in the book that Hilkiah the priest found in the house of the LORD. %%% Era nate abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna egyalabika mu nsi ya Yuda ne mu Yerusaalemi Yosiya n'abiggyawo, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama. 12K2I023.025 And like unto him was there no king before him, that turned to the LORD with all his heart, and with all his soul, and with all his might, according to all the law of Moses; neither after him arose there any like him. %%% Era tewali kabaka eyamusooka eyamufaanana eyakyukira Mukama n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna n'amaanyi ge gonna ng'amateeka ga Musa gonna bwe gali; so n'oluvannyuma lwe tewaagolokoka n'omu eyamufaanana. 12K2I023.026 Notwithstanding the LORD turned not from the fierceness of his great wrath, wherewith his anger was kindled against Judah, because of all the provocations that Manasseh had provoked him withal. %%% Era naye Mukama n'atakyuka kuleka ekiruyi kye ekingi ekyabuubuusa obusungu bwe eri Yuda olw'okusunguwaza kwonna Manase kwe yamusunguwaza. 12K2I023.027 And the LORD said, I will remove Judah also out of my sight, as I have removed Israel, and will cast off this city Jerusalem which I have chosen, and the house of which I said, My name shall be there. %%% Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo ne Yuda mu manso gange nga bwe nziyeewo Isiraeri, era ndisuula ekibuga kino kye nneeroboza, Yerusaalemi, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange linaabanga eyo. 12K2I023.028 Now the rest of the acts of Josiah, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I023.029 In his days Pharaohnechoh king of Egypt went up against the king of Assyria to the river Euphrates: and king Josiah went against him; and he slew him at Megiddo, when he had seen him. %%% Ku mirembe gye Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atabaala kabaka w'e Bwasuli ku mugga Fulaati: Yosiya n'amutabaala: n'amuttira e Megiddo bwe yamulaba. 12K2I023.030 And his servants carried him in a chariot dead from Megiddo, and brought him to Jerusalem, and buried him in his own sepulchre. And the people of the land took Jehoahaz the son of Josiah, and anointed him, and made him king in his father's stead. %%% Abaddu be ne bamusitulira mu ggaali ng'afudde ne bamuggya e Megiddo, ne bamuleeta e Yerusaalemi ne bamuziika mu ntaana ye. Abantu ab'omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe. 12K2I023.031 Jehoahaz was twenty and three years old when he began to reign; and he reigned three months in Jerusalem. And his mother's name was Hamutal, the daughter of Jeremiah of Libnah. %%% Yekoyakaazi, yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu esatu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. 12K2I023.032 And he did that which was evil in the sight of the LORD, according to all that his fathers had done. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola. 12K2I023.033 And Pharaohnechoh put him in bands at Riblah in the land of Hamath, that he might not reign in Jerusalem; and put the land to a tribute of an hundred talents of silver, and a talent of gold. %%% Awo Falaawoneko n'amusibira mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi n'ezaabu talanta emu. 12K2I023.034 And Pharaohnechoh made Eliakim the son of Josiah king in the room of Josiah his father, and turned his name to Jehoiakim, and took Jehoahaz away: and he came to Egypt, and died there. %%% Awo Falaawoneko n'afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n'awaanyisa erinnya lye, n'amutuuma Yekoyakimu: naye n'aggyayo Yekoyakaazi; n'ajja e Misiri n'afiira eyo. 12K2I023.035 And Jehoiakim gave the silver and the gold to Pharaoh; but he taxed the land to give the money according to the commandment of Pharaoh: he exacted the silver and the gold of the people of the land, of every one according to his taxation, to give it unto Pharaohnechoh. %%% Awo Yekoyakimu n'awa Falaawo effeeza n'ezaabu; naye n'asalira ensi ebintu okuwaayo effeeza eyo nga Falaawo bwe yalagira: yasolooza effeeza n'ezaabu ku bantu ab'omu nsi, ku buli muntu nga bwe yasalirwa ebintu, okubiwa Falaawoneko. 12K2I023.036 Jehoiakim was twenty and five years old when he began to reign; and he reigned eleven years in Jerusalem. And his mother's name was Zebudah, the daughter of Pedaiah of Rumah. %%% Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano, bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow'e Luuma. 12K2I023.037 And he did that which was evil in the sight of the LORD, according to all that his fathers had done. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola. 12K2I024.001 In his days Nebuchadnezzar king of Babylon came up, and Jehoiakim became his servant three years: then he turned and rebelled against him. %%% Ku mirembe gye Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ayambuka, Yekoyakimu n'afuuka omuddu we emyaka esatu: awo n'alyoka akyuka n'amujeemera. 12K2I024.002 And the LORD sent against him bands of the Chaldees, and bands of the Syrians, and bands of the Moabites, and bands of the children of Ammon, and sent them against Judah to destroy it, according to the word of the LORD, which he spake by his servants the prophets. %%% Awo Mukama n'amusindikira ebibiina eby'Abakaludaaya n'ebibiina eby'Abasuuli n'ebibiina eby'Abamowaabu n'ebibiina eby'abaana ba Amoni, n'abasindika ku Yuda okugizikiriza ng'ekigambo kya Mukama kye yayogera n'omukono gw'abaddu be bannabbi. 12K2I024.003 Surely at the commandment of the LORD came this upon Judah, to remove them out of his sight, for the sins of Manasseh, according to all that he did; %%% Mazima ekyo kyajjira Yuda lwa kiragiro kya Mukama, okubaggya mu maaso ge olw'okwonoona kwa Manase nga byonna bwe byali bye yakola; 12K2I024.004 And also for the innocent blood that he shed: for he filled Jerusalem with innocent blood; which the LORD would not pardon. %%% era n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa; kubanga yajjuza Yerusaalemi omusaayi ogutaliiko musango: Mukama n'atayagala kusonyiwa. 12K2I024.005 Now the rest of the acts of Jehoiakim, and all that he did, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Judah? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 12K2I024.006 So Jehoiakim slept with his fathers: and Jehoiachin his son reigned in his stead. %%% Awo Yekoyakimu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Yekoyakini mutabani we n'afuga mu kifo kye. 12K2I024.007 And the king of Egypt came not again any more out of his land: for the king of Babylon had taken from the river of Egypt unto the river Euphrates all that pertained to the king of Egypt. %%% Awo kabaka w'e Misiri teyeeyongera nate kujjanga okuva mu nsi ye: kubanga kabaka w'e Babulooni yali alidde byonna ebyabanga ebya kabaka w'e Misiri okuva ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati. 12K2I024.008 Jehoiachin was eighteen years old when he began to reign, and he reigned in Jerusalem three months. And his mother's name was Nehushta, the daughter of Elnathan of Jerusalem. %%% Yekoyakini yali yaakamaze emyaka kkumi na munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: n'ennyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow'e Yerusaalemi. 12K2I024.009 And he did that which was evil in the sight of the LORD, according to all that his father had done. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakolanga. 12K2I024.010 At that time the servants of Nebuchadnezzar king of Babylon came up against Jerusalem, and the city was besieged. %%% Mu biro ebyo abaddu ba Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni ne bambuka e Yerusaalemi, ekibuga ne kizingizibwa. 12K2I024.011 And Nebuchadnezzar king of Babylon came against the city, and his servants did besiege it. %%% Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ajja eri ekibuga, abaddu be nga bakyakizingiza; 12K2I024.012 And Jehoiachin the king of Judah went out to the king of Babylon, he, and his mother, and his servants, and his princes, and his officers: and the king of Babylon took him in the eighth year of his reign. %%% Yekoyakini kabaka wa Yuda n'afuluma n'ajja eri kabaka w'e Babulooni, ye ne nnyina n'abaddu be n'abakungu be n'abaami be: kabaka w'e Babulooni n'amukwata mu mwaka ogw'omunaana kasooka alya abwakabaka. 12K2I024.013 And he carried out thence all the treasures of the house of the LORD, and the treasures of the king's house, and cut in pieces all the vessels of gold which Solomon king of Israel had made in the temple of the LORD, as the LORD had said. %%% N'aggyamu eby'obugagga byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atematema ebintu byonna ebya zaabu Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yakola mu yeekaalu ya Mukama nga Mukama bwe yayogera. 12K2I024.014 And he carried away all Jerusalem, and all the princes, and all the mighty men of valour, even ten thousand captives, and all the craftsmen and smiths: none remained, save the poorest sort of the people of the land. %%% N'atwalira ddala Yerusaalemi kyonna n'abakungu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe kakumi, ne baffundi bonna n'abaweesi; tewali abaasigalawo wabula abo abaasinga obwavu ku bantu ab'omu nsi. 12K2I024.015 And he carried away Jehoiachin to Babylon, and the king's mother, and the king's wives, and his officers, and the mighty of the land, those carried he into captivity from Jerusalem to Babylon. %%% N'atwala Yekoyakini e Babulooni; ne nnyina kabaka ne baka kabaka n'abaami be n'abakulu ab'ensi n'abatwala e Babulooni nga basibe ng'abaggya e Yerusaalemi. 12K2I024.016 And all the men of might, even seven thousand, and craftsmen and smiths a thousand, all that were strong and apt for war, even them the king of Babylon brought captive to Babylon. %%% Era abasajja bonna ab'amaanyi, kasanvu, ne baffundi n'abaweesi, lukumi, bonna ba maanyi nga basaanidde okulwana, abo kabaka w'e Babulooni n'abatwala e Babulooni nga basibe. 12K2I024.017 And the king of Babylon made Mattaniah his father's brother king in his stead, and changed his name to Zedekiah. %%% Awo kabaka w'e Babulaoni n'afuula Mataniya muganda wa kitaawe kabaka mu kifo kye, n'awaanyisa erinnya lye n'amutuuma Zeddekiya. 12K2I024.018 Zedekiah was twenty and one years old when he began to reign, and he reigned eleven years in Jerusalem. And his mother's name was Hamutal, the daughter of Jeremiah of Libnah. %%% Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. 12K2I024.019 And he did that which was evil in the sight of the LORD, according to all that Jehoiakim had done. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yakola. 12K2I024.020 For through the anger of the LORD it came to pass in Jerusalem and Judah, until he had cast them out from his presence, that Zedekiah rebelled against the king of Babylon. %%% Kubanga kyatuukirira mu Yerusaalemi ne mu Yuda lwa busungu bwa Mukama okutuusa lwe yamala okubagoba mu maaso ge: Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni. 12K2I025.001 And it came to pass in the ninth year of his reign, in the tenth month, in the tenth day of the month, that Nebuchadnezzar king of Babylon came, he, and all his host, against Jerusalem, and pitched against it; and they built forts against it round about. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda kasooka alya obwakabaka, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okulwana ne Yerusaalemi, n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna. 12K2I025.002 And the city was besieged unto the eleventh year of king Zedekiah. %%% Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuusa ku mwaka ogwa kabaka Zedeekiya ogw'ekkumi n'ogumu. 12K2I025.003 And on the ninth day of the fourth month the famine prevailed in the city, and there was no bread for the people of the land. %%% Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogw'okuna enjala n'enyiikira mu kibuga, emmere n'okubula n'ebula abantu ab'omu nsi eyo. 12K2I025.004 And the city was broken up, and all the men of war fled by night by the way of the gate between two walls, which is by the king's garden: (now the Chaldees were against the city round about:) and the king went the way toward the plain. %%% Awo ne bawagula mu kibuga ekituli, abasajja bonna abalwanyi ne badduka kiro mu kkubo ery'omulyango oguli wakati wa babbugwe babiri ogwaliraana olusuku lwa kabaka: (era Abakaludaaya baali nga bazingizizza ekibuga enjuyi zonna:) kabaka n'ayita mu kkubo erya Alaba. 12K2I025.005 And the army of the Chaldees pursued after the king, and overtook him in the plains of Jericho: and all his army were scattered from him. %%% Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira. 12K2I025.006 So they took the king, and brought him up to the king of Babylon to Riblah; and they gave judgment upon him. %%% Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa ne bamuleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula; ne bamusalira omusango. 12K2I025.007 And they slew the sons of Zedekiah before his eyes, and put out the eyes of Zedekiah, and bound him with fetters of brass, and carried him to Babylon. %%% Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso Zeddekiya, ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babulooni. 12K2I025.008 And in the fifth month, on the seventh day of the month, which is the nineteenth year of king Nebuchadnezzar king of Babylon, came Nebuzaradan, captain of the guard, a servant of the king of Babylon, unto Jerusalem: %%% Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi: 12K2I025.009 And he burnt the house of the LORD, and the king's house, and all the houses of Jerusalem, and every great man's house burnt he with fire. %%% n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba ennene, n'azookya omuliro. 12K2I025.010 And all the army of the Chaldees, that were with the captain of the guard, brake down the walls of Jerusalem round about. %%% N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali n'omukulu w'abambowa ne bamenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna. 12K2I025.011 Now the rest of the people that were left in the city, and the fugitives that fell away to the king of Babylon, with the remnant of the multitude, did Nebuzaradan the captain of the guard carry away. %%% N'abantu abafisseewo abasigadde mu kibuga n'abo abaasenguka abaasenga kabaka w'e Babulooni n'abaffisseewo ku kibiina, abo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwalira ddala nga basibe. 12K2I025.012 But the captain of the guard left of the poor of the land to be vinedressers and husbandmen. %%% Naye omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abaasinga obwavu ab'omu nsi eyo okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga. 12K2I025.013 And the pillars of brass that were in the house of the LORD, and the bases, and the brasen sea that was in the house of the LORD, did the Chaldees break in pieces, and carried the brass of them to Babylon. %%% N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyamenya, ne batwala ebikomo byamu e Babulooni. 12K2I025.014 And the pots, and the shovels, and the snuffers, and the spoons, and all the vessels of brass wherewith they ministered, took they away. %%% N'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo bye baaweerezanga nabyo, ne babiggyayo. 12K2I025.015 And the firepans, and the bowls, and such things as were of gold, in gold, and of silver, in silver, the captain of the guard took away. %%% N'ebyoterezo n'ebibya; ebyali ebya zaabu, zaabu yaako, n'ebyali ebya ffeeza, ffeeza yaako, omukulu w'abambowa n'abiggyayo. 12K2I025.016 The two pillars, one sea, and the bases which Solomon had made for the house of the LORD; the brass of all these vessels was without weight. %%% Empagi zombi, ennyanja emu, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; ebikomo eby'ebintu bino byonna tebyagereka. 12K2I025.017 The height of the one pillar was eighteen cubits, and the chapiter upon it was brass: and the height of the chapiter three cubits; and the wreathen work, and pomegranates upon the chapiter round about, all of brass: and like unto these had the second pillar with wreathen work. %%% Empagi emu obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana, n'omutwe ogw'ekikomo gwali ku yo: n'omutwe obugulumivu bwagwo emikono esatu; omulimu omuluke n'amakomamawanga nga biri ku mutwe okwetooloola, byonna bya bikomo: n'empagi ey'okubiri yalina ebifaanana ebyo, n'omulimu omuluke. 12K2I025.018 And the captain of the guard took Seraiah the chief priest, and Zephaniah the second priest, and the three keepers of the door: %%% Omukulu w'abambowa n'akwata Seraya kabona asinga obukulu ne Zeffaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu: 12K2I025.019 And out of the city he took an officer that was set over the men of war, and five men of them that were in the king's presence, which were found in the city, and the principal scribe of the host, which mustered the people of the land, and threescore men of the people of the land that were found in the city: %%% ne mu kibuga n'aggyamu omwami eyakulira abasajja abalwanyi; n'abasajja bataano ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'omu nsi; n'abasajja nkaaga ku bantu ab'omu nsi eyo abaalabika mu kibuga. 12K2I025.020 And Nebuzaradan captain of the guard took these, and brought them to the king of Babylon to Riblah: %%% Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abakwata n'abaleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula. 12K2I025.021 And the king of Babylon smote them, and slew them at Riblah in the land of Hamath. So Judah was carried away out of their land. %%% Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bw'atyo Yuda n'atwalibwa nga musibe ng'aggibwa mu nsi ye. 12K2I025.022 And as for the people that remained in the land of Judah, whom Nebuchadnezzar king of Babylon had left, even over them he made Gedaliah the son of Ahikam, the son of Shaphan, ruler. %%% N'abantu abaasigala mu nsi ya Yuda Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yaleka, abo n'abafuulira Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani omukulu waabwe. 12K2I025.023 And when all the captains of the armies, they and their men, heard that the king of Babylon had made Gedaliah governor, there came to Gedaliah to Mizpah, even Ishmael the son of Nethaniah, and Johanan the son of Careah, and Seraiah the son of Tanhumeth the Netophathite, and Jaazaniah the son of a Maachathite, they and their men. %%% Awo abaami bonna ab'eggye, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afudde Gedaliya omukulu, ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe. 12K2I025.024 And Gedaliah sware to them, and to their men, and said unto them, Fear not to be the servants of the Chaldees: dwell in the land, and serve the king of Babylon; and it shall be well with you. %%% Awo Gedaliya n'abalayirira bo n'abasajja baabwe n'abagamba nti Temutya olw'abaddu b'Abakaludaaya: mubeere mu nsi muweereze kabaka w'e Babulooni, kale muliba bulungi. 12K2I025.025 But it came to pass in the seventh month, that Ishmael the son of Nethaniah, the son of Elishama, of the seed royal, came, and ten men with him, and smote Gedaliah, that he died, and the Jews and the Chaldees that were with him at Mizpah. %%% Naye olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya mutabani wa Erisaama ow'ezzadde lya kabaka n'ajja n'abasajja kkumi wamu naye ne bafumita Gedaliya n'okufa n'afa, n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa. 12K2I025.026 And all the people, both small and great, and the captains of the armies, arose, and came to Egypt: for they were afraid of the Chaldees. %%% Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne bagolokoka ne bajja e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya. 12K2I025.027 And it came to pass in the seven and thirtieth year of the captivity of Jehoiachin king of Judah, in the twelfth month, on the seven and twentieth day of the month, that Evilmerodach king of Babylon in the year that he began to reign did lift up the head of Jehoiachin king of Judah out of prison; %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu musanvu Evirumerodaki kabaka w'e Babulooni n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda okumuggya mu kkomera mu mwaka mwe yatanulira okufuga; 12K2I025.028 And he spake kindly to him, and set his throne above the throne of the kings that were with him in Babylon; %%% n'amugamba eby'ekisa n'agulumiza entebe ye okusinga bakabaka abaali awamu naye mu Babulooni. 12K2I025.029 And changed his prison garments: and he did eat bread continually before him all the days of his life. %%% N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera n'aliiranga emmere mu maaso ge ennaku zonna ez'obulamu bwe. 12K2I025.030 And his allowance was a continual allowance given him of the king, a daily rate for every day, all the days of his life. %%% N'okumuliisanga kabaka n'amuwa ebya bulijjo eby'okumuliisanga, buli lunaku omugabo gwalwo, ennaku zonna ez'obulamu bwe. 13C1H001.001 Adam, Sheth, Enosh, %%% Adamu, Seezi, Enosi; 13C1H001.002 Kenan, Mahalaleel, Jered, %%% Kenani, Makalaleri, Yaledi; 13C1H001.003 Henoch, Methuselah, Lamech, %%% Enoki, Mesuseera, Lameka; 13C1H001.004 Noah, Shem, Ham, and Japheth. %%% Nuuwa, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. 13C1H001.005 The sons of Japheth; Gomer, and Magog, and Madai, and Javan, and Tubal, and Meshech, and Tiras. %%% Batabani ba Yafeesi; Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi. 13C1H001.006 And the sons of Gomer; Ashchenaz, and Riphath, and Togarmah. %%% Ne batabani ba Gomeri; Asukenaazi, ne Difasi, ne Togaluma. 13C1H001.007 And the sons of Javan; Elishah, and Tarshish, Kittim, and Dodanim. %%% Ne batabani ba Yavani; Erisa, ne Talusiisi, Kittimu, ne Lodanimu. 13C1H001.008 The sons of Ham; Cush, and Mizraim, Put, and Canaan. %%% Batabani ba Kaamu; Kuusi, ne Mizulayimu, Puti, ne Kanani. 13C1H001.009 And the sons of Cush; Seba, and Havilah, and Sabta, and Raamah, and Sabtecha. And the sons of Raamah; Sheba, and Dedan. %%% Ne batabani ba Kuusi; Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka. Ne batabani ba Laama; Seeba, ne Dedani. 13C1H001.010 And Cush begat Nimrod: he began to be mighty upon the earth. %%% Kuusi n'azaala Nimuloodi: n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi. 13C1H001.011 And Mizraim begat Ludim, and Anamim, and Lehabim, and Naphtuhim, %%% Mizulayimu n'azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 13C1H001.012 And Pathrusim, and Casluhim, (of whom came the Philistines,) and Caphthorim. %%% ne Pasulusimu, ne Kasulukimu Abafirisuuti gye baava, ne Kafutolimu. 13C1H001.013 And Canaan begat Zidon his firstborn, and Heth, %%% Kanani n'azaala Sidoni omubereberye we, ne Keesi; 13C1H001.014 The Jebusite also, and the Amorite, and the Girgashite, %%% n'Omuyebusi n'Omwamoli n'Omugirugaasi; 13C1H001.015 And the Hivite, and the Arkite, and the Sinite, %%% n'Omukiivi n'Omwaluki n'Omusiini; 13C1H001.016 And the Arvadite, and the Zemarite, and the Hamathite. %%% n'Omwaluvadi n'Omuzemali n'Omukamasi. 13C1H001.017 The sons of Shem; Elam, and Asshur, and Arphaxad, and Lud, and Aram, and Uz, and Hul, and Gether, and Meshech. %%% Batabani ba Seemu: Eramu; ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Luddi, ne Alamu, ne Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki. 13C1H001.018 And Arphaxad begat Shelah, and Shelah begat Eber. %%% Alupakusaadi n'azaala Seera, Seera n'azaala Eberi. 13C1H001.019 And unto Eber were born two sons: the name of the one was Peleg; because in his days the earth was divided: and his brother's name was Joktan. %%% Eberi n'azaalirwa abaana babiri ab'obulenzi: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi mwe yagabanirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani, 13C1H001.020 And Joktan begat Almodad, and Sheleph, and Hazarmaveth, and Jerah, %%% Yokutaani n'azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumavesi, ne Yera; 13C1H001.021 Hadoram also, and Uzal, and Diklah, %%% ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 13C1H001.022 And Ebal, and Abimael, and Sheba, %%% ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba; 13C1H001.023 And Ophir, and Havilah, and Jobab. All these were the sons of Joktan. %%% ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu. Abo bonna baali batabani ba Yokutaani, 13C1H001.024 Shem, Arphaxad, Shelah, %%% Seemu, Alupakusaadi, Seera; 13C1H001.025 Eber, Peleg, Reu, %%% Eberi, Peregi, Lewu; 13C1H001.026 Serug, Nahor, Terah, %%% Serugi, Nakoli, Teera; 13C1H001.027 Abram; the same is Abraham. %%% Ibulaamu ye Ibulayimu. 13C1H001.028 The sons of Abraham; Isaac, and Ishmael. %%% Batabani ba Ibulayimu; Isaaka ne Isimaeri. 13C1H001.029 These are their generations: The firstborn of Ishmael, Nebaioth; then Kedar, and Adbeel, and Mibsam, %%% Okwo kwe kuzaalibwa kwabwe: omubereberye wa Isimaeri, Nebayoosi; awo Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 13C1H001.030 Mishma, and Dumah, Massa, Hadad, and Tema, %%% Misuma, ne Duma, Massa; Kadadi, ne Tema, 13C1H001.031 Jetur, Naphish, and Kedemah. These are the sons of Ishmael. %%% Yetuli, Nafisi, ne Kedema. Abo be baana ba Isimaeri. 13C1H001.032 Now the sons of Keturah, Abraham's concubine: she bare Zimran, and Jokshan, and Medan, and Midian, and Ishbak, and Shuah. And the sons of Jokshan; Sheba, and Dedan. %%% Ne batabani ba Ketula, omuzaana wa Ibulayimu; oyo n'azaala Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa. Ne batabani ba Yokusaani; Seeba, ne Dedani. 13C1H001.033 And the sons of Midian; Ephah, and Epher, and Henoch, and Abida, and Eldaah. All these are the sons of Keturah. %%% Ne batabani ba Midiyaani; Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida, ne Erudaa. Abo bonna baali batabani ba Ketula. 13C1H001.034 And Abraham begat Isaac. The sons of Isaac; Esau and Israel. %%% Ibulayimu n'azaala Isaaka. Batabani ba Isaaka; Esawu ne Isiraeri. 13C1H001.035 The sons of Esau; Eliphaz, Reuel, and Jeush, and Jaalam, and Korah. %%% Batabani ba Esawu; Erifaazi, Leweri; ne Yewusi, ne Yalamu, ne Koola. 13C1H001.036 The sons of Eliphaz; Teman, and Omar, Zephi, and Gatam, Kenaz, and Timna, and Amalek. %%% Batabani ba Erifaazi; Temani, ne Omali, Zeefi, ne Gatamu, Kenazi, ne Timuna, ne Amaleki. 13C1H001.037 The sons of Reuel; Nahath, Zerah, Shammah, and Mizzah. %%% Batabani ba Leweri; Nakasi, Zeera, Samma, ne Mizza. 13C1H001.038 And the sons of Seir; Lotan, and Shobal, and Zibeon, and Anah, and Dishon, and Ezar, and Dishan. %%% Ne batabani ba Seyiri; Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri, ne Disani. 13C1H001.039 And the sons of Lotan; Hori, and Homam: and Timna was Lotan's sister. %%% Ne batabani ba Lotani; Koli ne Komamu: ne Timuna yali mwannyina Lotani. 13C1H001.040 The sons of Shobal; Alian, and Manahath, and Ebal, Shephi, and Onam. And the sons of Zibeon; Aiah, and Anah. %%% Batabani ba Sobali; Aliyani ne Manakasi ne Ebali, Seefi ne Onamu. Ne batabani ba Zibyoni; Aya ne Ana. 13C1H001.041 The sons of Anah; Dishon. And the sons of Dishon; Amram, and Eshban, and Ithran, and Cheran. %%% Batabani ba Ana; Disoni. Ne batabani ba Disoni; Kamulani ne Esubani ne Isulani ne Kerani, 13C1H001.042 The sons of Ezer; Bilhan, and Zavan, and Jakan. The sons of Dishan; Uz, and Aran. %%% Batabani ba Ezeri; Birukani ne Zaavaai, Yaakani. Batabani ba Disani; Uzi ne Alani. 13C1H001.043 Now these are the kings that reigned in the land of Edom before any king reigned over the children of Israel; Bela the son of Beor: and the name of his city was Dinhabah. %%% Kale abo be bakabaka abaafuga mu nsi ya Edomu, kabaka yenna nga tannafuga baana ba Isiraeri: Bera mutabani wa Byoli; n'erinnya ly'e kibuga kye lyali Dinukaba. 13C1H001.044 And when Bela was dead, Jobab the son of Zerah of Bozrah reigned in his stead. %%% Bera bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozula n'afuga mu kifo kye. 13C1H001.045 And when Jobab was dead, Husham of the land of the Temanites reigned in his stead. %%% Yobabu bwe yafa, Kusamu ow'ensi y'Abatemani n'afuga mu kifo kye. 13C1H001.046 And when Husham was dead, Hadad the son of Bedad, which smote Midian in the field of Moab, reigned in his stead: and the name of his city was Avith. %%% Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyakuba Midiyaani mu ttale lya Mowaabu n'afuga mu kifo kye: n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Avisi. 13C1H001.047 And when Hadad was dead, Samlah of Masrekah reigned in his stead. %%% Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'afuga mu kifo kye. 13C1H001.048 And when Samlah was dead, Shaul of Rehoboth by the river reigned in his stead. %%% Samula bwe yafa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiri ku Mugga n'afuga mu kifo kye. 13C1H001.049 And when Shaul was dead, Baalhanan the son of Achbor reigned in his stead. %%% Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n'afuga mu kifo kye. 13C1H001.050 And when Baalhanan was dead, Hadad reigned in his stead: and the name of his city was Pai; and his wife's name was Mehetabel, the daughter of Matred, the daughter of Mezahab. %%% Baalukanani bwe yafa, Kadadi n'afuga mu kifo kye; n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Payi: ne mukazi we erinnya lye yali Meketaberi muwala wa Matuledi, muwala wa Mezakabu. 13C1H001.051 Hadad died also. And the dukes of Edom were; duke Timnah, duke Aliah, duke Jetheth, %%% Kadadi bwe yafa. N'abakungu ba Edomu be bano; omukungu Timuna, omukungu Aliya, omukungu Yesesi; 13C1H001.052 Duke Aholibamah, duke Elah, duke Pinon, %%% omukungu Okolibama, omukungu Era, omukungu Pinoni; 13C1H001.053 Duke Kenaz, duke Teman, duke Mibzar, %%% omukungu Kenazi, omukungu Temani, omukungu Mibuzali; 13C1H001.054 Duke Magdiel, duke Iram. These are the dukes of Edom. %%% omukungu Magudyeri, omukungu Iramu. Abo be bakungu ba Edomu. 13C1H002.001 These are the sons of Israel; Reuben, Simeon, Levi, and Judah, Issachar, and Zebulun, %%% Bano be batabani ba Isiraeri; Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda, Isakaali ne Zebbulooni; 13C1H002.002 Dan, Joseph, and Benjamin, Naphtali, Gad, and Asher. %%% Ddaani, Yusufu ne Benyamini, Nafutaali, Gaadi ne Aseri. 13C1H002.003 The sons of Judah; Er, and Onan, and Shelah: which three were born unto him of the daughter of Shua the Canaanitess. And Er, the firstborn of Judah, was evil in the sight of the LORD; and he slew him. %%% Batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera: abo bonsatule baamuzaalirwa mu Basusuwa Omukanani. Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; n'amutta, 13C1H002.004 And Tamar his daughter in law bore him Pharez and Zerah. All the sons of Judah were five. %%% Tamali muka mwana we n'amuzaalira Pereezi ne Zeera. Batabani ba Yuda bonna baali bataano. 13C1H002.005 The sons of Pharez; Hezron, and Hamul. %%% Batabani ba Pereezi; Kezulooni ne Kamuli. 13C1H002.006 And the sons of Zerah; Zimri, and Ethan, and Heman, and Calcol, and Dara: five of them in all. %%% Ne batabani ba Zeera; Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala: bonna bataano. 13C1H002.007 And the sons of Carmi; Achar, the troubler of Israel, who transgressed in the thing accursed. %%% Ne batabani ba Kalumi; Akali, omuteganya wa Isiraeri, eyayonoona mu ekyo ekyawongebwa. 13C1H002.008 And the sons of Ethan; Azariah. %%% Ne batabani ba Esani: Azaliya. 13C1H002.009 The sons also of Hezron, that were born unto him; Jerahmeel, and Ram, and Chelubai. %%% Era batabani ba Kezulooni, abaamuzaalirwa; Yerameeri, ne Laamu, ne Kerubayi. 13C1H002.010 And Ram begat Amminadab; and Amminadab begat Nahshon, prince of the children of Judah; %%% Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nakusoni, omukulu w'abaana ba Yuda; 13C1H002.011 And Nahshon begat Salma, and Salma begat Boaz, %%% Nakusoni n'azaala Saluma, Saluma n'azaala Bowaazi; 13C1H002.012 And Boaz begat Obed, and Obed begat Jesse, %%% Bowaazi n'azaala Obedi, Obedi n'azaala Yese; 13C1H002.013 And Jesse begat his firstborn Eliab, and Abinadab the second, and Shimma the third, %%% Yese n'azaala omubereberye we Eriyaabu, ne Abinadaabu, ye w'okubiri, ne Simeeya ye w'okusatu; 13C1H002.014 Nethaneel the fourth, Raddai the fifth, %%% Nesaneeri, ye w'okuna, Laddayi, ye w'okutaano; 13C1H002.015 Ozem the sixth, David the seventh: %%% Ozemu, ye w'omukaaga, Dawudi ye w'omusanvu: 13C1H002.016 Whose sisters were Zeruiah, and Abigail. And the sons of Zeruiah; Abishai, and Joab, and Asahel, three. %%% ne bannyinnaabwe be bano; Zeruyiya ne Abbigayiri. Ne batabani ba Zeruyiya; Abisaayi, ne Yowaabu, ne Asakeri, basatu. 13C1H002.017 And Abigail bare Amasa: and the father of Amasa was Jether the Ishmeelite. %%% Abbigayiri n'azaala Amasa: ne kitaawe wa Amasa yali Yeseri Omuisimaeri. 13C1H002.018 And Caleb the son of Hezron begat children of Azubah his wife, and of Jerioth: her sons are these; Jesher, and Shobab, and Ardon. %%% Kalebu mutabani wa Kezulooni n'azaala abaana mu Azuba mukazi we, ne mu Yeriyoosi: ne bano be baali batabani be; Yeseri ne Sobabu, ne Aludoni. 13C1H002.019 And when Azubah was dead, Caleb took unto him Ephrath, which bare him Hur. %%% Azuba bwe yafa, Kalebu n'afumbirwa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli. 13C1H002.020 And Hur begat Uri, and Uri begat Bezaleel. %%% Kuuli n'azaala Uli, Uli n'azaala Bezaleeri. 13C1H002.021 And afterward Hezron went in to the daughter of Machir the father of Gilead, whom he married when he was threescore years old; and she bare him Segub. %%% Oluvannyuma Kezulooni n'ayingira eri muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi; gwe yafumbirwa nga yaakamaze emyaka nkaaga; n'amuzaalira Segubu. 13C1H002.022 And Segub begat Jair, who had three and twenty cities in the land of Gilead. %%% Segubu n'azaala Yayiri, eyalina ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ya Gireyaadi. 13C1H002.023 And he took Geshur, and Aram, with the towns of Jair, from them, with Kenath, and the towns thereof, even threescore cities. All these belonged to the sons of Machir the father of Gilead. %%% Gesuli ne Alamu ne babaggyako ebibuga bya Yayiri, ne Kenasi n'ebyalo byako, ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali batabani ba Makiri kitaawe wa Gireyaadi. 13C1H002.024 And after that Hezron was dead in Calebephratah, then Abiah Hezron's wife bare him Ashur the father of Tekoa. %%% Awo Kezulooni ng'amaze okufa mu Kalebu-efulaasa, Abiya muka Kezulooni n'amuzaalira Asukuli kitaawe wa Tekowa. 13C1H002.025 And the sons of Jerahmeel the firstborn of Hezron were, Ram the firstborn, and Bunah, and Oren, and Ozem, and Ahijah. %%% Ne batabani ba Yerameeri omubereberye wa Kezulooni be bano; Laamu omubereberye, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu, Akiya. 13C1H002.026 Jerahmeel had also another wife, whose name was Atarah; she was the mother of Onam. %%% Era Yerameeri yalina n'omukazi ow'okubiri erinnya lye Atala; oyo ye yali nnyina Onamu. 13C1H002.027 And the sons of Ram the firstborn of Jerahmeel were, Maaz, and Jamin, and Eker. %%% Ne batabani ba Laamu omubereberye wa Yerameeri ye Maazi, ne Yamini, ne Ekeri. 13C1H002.028 And the sons of Onam were, Shammai, and Jada. And the sons of Shammai; Nadab, and Abishur. %%% Ne batabani ba Onamu ye Sammayi, ne Yada: ne batabani ba Sammayi; Nadabu, ne Abisuli. 13C1H002.029 And the name of the wife of Abishur was Abihail, and she bare him Ahban, and Molid. %%% Ne muka Abisuli erinnya lye yali Abikayiri; n'amuzaalira Abani, ne Molidi. 13C1H002.030 And the sons of Nadab; Seled, and Appaim: but Seled died without children. %%% Ne batabani ba Nadabu; Seredi, ne Appayimu: naye Seredi n'afa nga talina baana. 13C1H002.031 And the sons of Appaim; Ishi. And the sons of Ishi; Sheshan. And the children of Sheshan; Ahlai. %%% Ne batabani ba Appayimu; Isi. Ne batabani ba Isi; Sesani. Ne batabani ba Sesani; Alayi. 13C1H002.032 And the sons of Jada the brother of Shammai; Jether, and Jonathan: and Jether died without children. %%% Ne batabani ba Yada, muganda wa Sammayi; Yeseri, ne Yonasaani: Yeseri n'afa nga talina baana. 13C1H002.033 And the sons of Jonathan; Peleth, and Zaza. These were the sons of Jerahmeel. %%% Ne batabani ba Yonasaani; Peresi, ne Zaza. Abo be baali batabani ba Yerameeri. 13C1H002.034 Now Sheshan had no sons, but daughters. And Sheshan had a servant, an Egyptian, whose name was Jarha. %%% Awo Sesani teyalina baana ba bulenzi wabula ab'obuwala. Sesani n'aba n'omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. 13C1H002.035 And Sheshan gave his daughter to Jarha his servant to wife; and she bare him Attai. %%% Sesani n'awa Yala omuddu we muwala we okumufumbirwa; n'amuzaalira Attayi. 13C1H002.036 And Attai begat Nathan, and Nathan begat Zabad, %%% Attayi n'azaala Nasani, Nasani n'azaala Zabadi; 13C1H002.037 And Zabad begat Ephlal, and Ephlal begat Obed, %%% Zabadi n'azaala Efulali, Efulali n'azaala Obedi; 13C1H002.038 And Obed begat Jehu, and Jehu begat Azariah, %%% Obedi n'azaala Yeeku, Yeeku n'azaala Azaliya; 13C1H002.039 And Azariah begat Helez, and Helez begat Eleasah, %%% Azaliya n'azaala Kerezi, Kerezi n'azaala Ereyaasa; 13C1H002.040 And Eleasah begat Sisamai, and Sisamai begat Shallum, %%% Ereyaasa n'azaala Sisumaayi; Sisumaayi n'azaala Sallumu; 13C1H002.041 And Shallum begat Jekamiah, and Jekamiah begat Elishama. %%% Sallumu n'azaala Yekamiya, Yekamiya n'azaala Erisaama. 13C1H002.042 Now the sons of Caleb the brother of Jerahmeel were, Mesha his firstborn, which was the father of Ziph; and the sons of Mareshah the father of Hebron. %%% Ne batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeri ye Mesa omubereberye we, ye yali kitaawe wa Zifu; ne batabani ba Malesa kitaawe wa Kebbulooni: 13C1H002.043 And the sons of Hebron; Korah, and Tappuah, and Rekem, and Shema. %%% Ne batabani ba Kebbulooni; Koola, ne Tappuwa, ne Lekemu, ne Seema. 13C1H002.044 And Shema begat Raham, the father of Jorkoam: and Rekem begat Shammai. %%% Seema n'azaala Lakamu, kitaawe wa Yolukeyaamu; Lekemu n'azaala Sammayi. 13C1H002.045 And the son of Shammai was Maon: and Maon was the father of Bethzur. %%% Ne mutabani wa Sammayi yali Mawoni; era Mawoni yali kitaawe wa Besuzuli. 13C1H002.046 And Ephah, Caleb's concubine, bare Haran, and Moza, and Gazez: and Haran begat Gazez. %%% Efa muzaana wa Kalebu n'azaala Kalani, ne Moza, ne Gazezi: Kalani n'azaala Gazezi. 13C1H002.047 And the sons of Jahdai; Regem, and Jotham, and Gesham, and Pelet, and Ephah, and Shaaph. %%% Ne batabani ba Yadayi; Legemu, ne Yosamu; ne Gesani, ne Pereti, ne Efa, ne Saafu. 13C1H002.048 Maachah, Caleb's concubine, bare Sheber, and Tirhanah. %%% Maaka omuzaana wa Kalebu n'azaala Seberi ne Tirukaana. 13C1H002.049 She bare also Shaaph the father of Madmannah, Sheva the father of Machbenah, and the father of Gibea: and the daughter of Caleb was Achsa. %%% Era n'azaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena, era kitaawe wa Uibeya; ne muwala wa Kalebu yali Akusa. 13C1H002.050 These were the sons of Caleb the son of Hur, the firstborn of Ephratah; Shobal the father of Kirjathjearim, %%% Abo be baali batabani ba Kalebu; mutabani wa Kuuli, omubereberye wa Efulaasa, Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu; 13C1H002.051 Salma the father of Bethlehem, Hareph the father of Bethgader. %%% Saluma kitaawe wa Besirekemu, Kalefu kitaawe wa Besugaderi. 13C1H002.052 And Shobal the father of Kirjathjearim had sons; Haroeh, and half of the Manahethites. %%% Ne Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu yalina abaana; Kalowe, ekitundu ky'Abamenukosi. 13C1H002.053 And the families of Kirjathjearim; the Ithrites, and the Puhites, and the Shumathites, and the Mishraites; of them came the Zareathites, and the Eshtaulites. %%% N'enda za Kiriyasuyalimu; Abayisuli, n'Abapusi, n'Abasumasi, n'Abamisulayi; ku abo kwe kwava Abazolasi n'Abayesutawooli. 13C1H002.054 The sons of Salma; Bethlehem, and the Netophathites, Ataroth, the house of Joab, and half of the Manahethites, the Zorites. %%% Batabani ba Saluma; Besirekemu, n'Abanetofa, Atulosubesuyowabu, n'ekitundu ky'Abamanakasi, Abazooli. 13C1H002.055 And the families of the scribes which dwelt at Jabez; the Tirathites, the Shimeathites, and Suchathites. These are the Kenites that came of Hemath, the father of the house of Rechab. %%% N'enda ez'abawandiisi abaabeeranga e Yabezi; Abatirasi, Abasimeyasi, Abasukasi. Abo be Bakeeni abaava ku Kammasi kitaawe w'ekika kya Lekabu. 13C1H003.001 Now these were the sons of David, which were born unto him in Hebron; the firstborn Amnon, of Ahinoam the Jezreelitess; the second Daniel, of Abigail the Carmelitess: %%% Era bano be baali batabani ba Dawudi, abaamuzaalirwa e Kebbulooni: omubereberye Amunoni, omwana wa Akinoamu Omuyezuleeri; ow'okubiri Danyeri, omwana wa Abbigayiri Omukalumeeri; 13C1H003.002 The third, Absalom the son of Maachah the daughter of Talmai king of Geshur: the fourth, Adonijah the son of Haggith: %%% ow'okusatu, Abusaalomu, omwana wa Maaka muwala wa Talumayi kabaka w'e Gesuli; ow'okuna Adoniya omwana wa Kaggisi; 13C1H003.003 The fifth, Shephatiah of Abital: the sixth, Ithream by Eglah his wife. %%% ow'okutaano Sefatiya, omwana wa Abitali; ow'omukaaga Isuleyamu, gwe yazaala mu Eggulaasi mukazi we. 13C1H003.004 These six were born unto him in Hebron; and there he reigned seven years and six months: and in Jerusalem he reigned thirty and three years. %%% Yazaalirwa abaana mukaaga e Kebbulooni; era yafugira eyo emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu. 13C1H003.005 And these were born unto him in Jerusalem; Shimea, and Shobab, and Nathan, and Solomon, four, of Bathshua the daughter of Ammiel: %%% Era bano be baamuzaalirwa mu Yerusaalemi: Simeeya, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, bana, abaana ba Basusuwa muwala wa Ammiyeri: 13C1H003.006 Ibhar also, and Elishama, and Eliphelet, %%% ne Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti; 13C1H003.007 And Nogah, and Nepheg, and Japhia, %%% ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya; 13C1H003.008 And Elishama, and Eliada, and Eliphelet, nine. %%% ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, mwenda. 13C1H003.009 These were all the sons of David, beside the sons of the concubines, and Tamar their sister. %%% Abo bonna baali batabani ba Dawudi, obutassaako baana ba bazaana; era Tamali yali mwannyinnaabwe. 13C1H003.010 And Solomon's son was Rehoboam, Abia his son, Asa his son, Jehoshaphat his son, %%% Ne Lekobowaamu ye yali mutabani wa Sulemaani, mutabaai we Abiya, mutabani we Asa, mutabani we Yekosafaati; 13C1H003.011 Joram his son, Ahaziah his son, Joash his son, %%% mutabani we Yolaamu, mutabani we Akaziya, mutabani we Yowaasi; 13C1H003.012 Amaziah his son, Azariah his son, Jotham his son, %%% mutabani we Amaziya, mutabani we Azaliya, mutabani we Yosamu; 13C1H003.013 Ahaz his son, Hezekiah his son, Manasseh his son, %%% mutabani we Akazi, mutabani we Keezeekiya, mutabani we Manase; 13C1H003.014 Amon his son, Josiah his son. %%% mutabani we Amoni, mutabani we Yosiya. 13C1H003.015 And the sons of Josiah were, the firstborn Johanan, the second Jehoiakim, the third Zedekiah, the fourth Shallum. %%% Ne batabani ba Yosiya; omubereberye Yokanani, ow'okubiri Yekoyakimu, ow'okusatu Zeddekiya, ow'okuna Sallumu. 13C1H003.016 And the sons of Jehoiakim: Jeconiah his son, Zedekiah his son. %%% Ne batabani ba Yekoyakimu: Yekoniya mutabani we, Zeddekiya mutabani we. 13C1H003.017 And the sons of Jeconiah; Assir, Salathiel his son, %%% Ne batabani ba Yekoniya omusibe; Seyalutyeri mutabani we, 13C1H003.018 Malchiram also, and Pedaiah, and Shenazar, Jecamiah, Hoshama, and Nedabiah. %%% ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, Yekamiya, Kosama, ne Nedabiya. 13C1H003.019 And the sons of Pedaiah were, Zerubbabel, and Shimei: and the sons of Zerubbabel; Meshullam, and Hananiah, and Shelomith their sister: %%% Ne batabani ba Pedaya; Zerubbaberi, ne Simeeyi: ne batabani ba Zerubbaberi; Mesullamu, ne Kananiya; ne Seromisi yali mwannyinaabwe: 13C1H003.020 And Hashubah, and Ohel, and Berechiah, and Hasadiah, Jushabhesed, five. %%% ne Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya; Yusabukesedi, bataano. 13C1H003.021 And the sons of Hananiah; Pelatiah, and Jesaiah: the sons of Rephaiah, the sons of Arnan, the sons of Obadiah, the sons of Shechaniah. %%% Ne batabani ba Kananiya; Peratiya, ne Yesukaya: batabani ba Lefaya, batabani ba Alunani, batabani ba Obadiya, batabani ba Sekaniya. 13C1H003.022 And the sons of Shechaniah; Shemaiah: and the sons of Shemaiah; Hattush, and Igeal, and Bariah, and Neariah, and Shaphat, six. %%% Ne batabani ba Sekaniya; Semaaya: ne batabani ba Semaaya; Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati, mukaaga. 13C1H003.023 And the sons of Neariah; Elioenai, and Hezekiah, and Azrikam, three. %%% Ne batabani ba Neyaliya; Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, basatu. 13C1H003.024 And the sons of Elioenai were, Hodaiah, and Eliashib, and Pelaiah, and Akkub, and Johanan, and Dalaiah, and Anani, seven. %%% Ne batabani ba Eriwenayi; Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani, musanvu. 13C1H004.001 The sons of Judah; Pharez, Hezron, and Carmi, and Hur, and Shobal. %%% Ne batabani ba Eriwenayi; Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani, musanvu. 13C1H004.002 And Reaiah the son of Shobal begat Jahath; and Jahath begat Ahumai, and Lahad. These are the families of the Zorathites. %%% Ne Leyaya mutabani wa Sobali n'azaala Yakasi; Yakasi n'azaala Akumayi ne Lakadi. Ezo ze nda ez'Abazolaasi. 13C1H004.003 And these were of the father of Etam; Jezreel, and Ishma, and Idbash: and the name of their sister was Hazelelponi: %%% Era bano be baali abaana ba kitaawe wa Etamu; Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi: n'erinnya lya mwannyinaabwe yali Kazzereruponi: 13C1H004.004 And Penuel the father of Gedor, and Ezer the father of Hushah. These are the sons of Hur, the firstborn of Ephratah, the father of Bethlehem. %%% ne Penueri kitaawe wa Gedoli, ne Ezeri kitaawe wa Kusa. Abo be batabani ba Kuuli omubereberye wa Efulaasa, kitaawe wa Besirekemu. 13C1H004.005 And Ashur the father of Tekoa had two wives, Helah and Naarah. %%% Era Asukuli kitaawe wa Tekowa yalina abakazi babiri, Keera ne Naala. 13C1H004.006 And Naarah bare him Ahuzam, and Hepher, and Temeni, and Haahashtari. These were the sons of Naarah. %%% Naala n'amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni, ne Kaakasutali. Abo be baali batabani ba Naala. 13C1H004.007 And the sons of Helah were, Zereth, and Jezoar, and Ethnan. %%% Ne batabani ba Keera ye Zeresi; Izukaali, ne Esunani. 13C1H004.008 And Coz begat Anub, and Zobebah, and the families of Aharhel the son of Harum. %%% Kakkozi n'azaala Anubu, ne Zobeba, n'enda za Akalukeri mutabani wa Kalumu. 13C1H004.009 And Jabez was more honourable than his brethren: and his mother called his name Jabez, saying, Because I bare him with sorrow. %%% Yabezi n'aba n'ekitiibwa okukira baganda be: nnyina n'amutuuma erinnya Yabezi, ng'ayogera nti Kubanga namuzaala lwa buyinike. 13C1H004.010 And Jabez called on the God of Israel, saying, Oh that thou wouldest bless me indeed, and enlarge my coast, and that thine hand might be with me, and that thou wouldest keep me from evil, that it may not grieve me! And God granted him that which he requested. %%% Yabezi n'akaabiriranga Katonda wa Isiraeri, ng'ayogera nti Singa ompeeredde ddala omukisa, n'ogaziya ensalo yange, era oba nga omukono gwo gunaabanga nange n'onkuuma obutalaba bubi, buleme okunnumya omwoyo! Katonda n'amuwa kye yasaba. 13C1H004.011 And Chelub the brother of Shuah begat Mehir, which was the father of Eshton. %%% Kerubu muganda wa Suwa n'azaala Mekiri, eyali kitaawe wa Esutoni. 13C1H004.012 And Eshton begat Bethrapha, and Paseah, and Tehinnah the father of Irnahash. These are the men of Rechah. %%% Esutoni n'azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina kitaawe wa Irunakasi. Abo be basajja ab'e Leka. 13C1H004.013 And the sons of Kenaz; Othniel, and Seraiah: and the sons of Othniel; Hathath. %%% Ne batabani ba Kenazi; Osunieri ne Seraya: ne batabani ba Osunieri; Kasasi. 13C1H004.014 And Meonothai begat Ophrah: and Seraiah begat Joab, the father of the valley of Charashim; for they were craftsmen. %%% Myonosaayi n'azaala Ofula: Seraya n'azaala Yowaabu kitaawe wa Gekalasimu; kubanga baali bafundi. 13C1H004.015 And the sons of Caleb the son of Jephunneh; Iru, Elah, and Naam: and the sons of Elah, even Kenaz. %%% Ne batabani ba Kalebu mutabani wa Yefune; Iru, Era, ne Naamu: ne batabani ba Era; ne Kenazi. 13C1H004.016 And the sons of Jehaleleel; Ziph, and Ziphah, Tiria, and Asareel. %%% Ne batabani ba Yekalereri; Zifu, ne Zifa, ne Tiriya, ne Asaleri. 13C1H004.017 And the sons of Ezra were, Jether, and Mered, and Epher, and Jalon: and she bare Miriam, and Shammai, and Ishbah the father of Eshtemoa. %%% Ne batabani ba Ezula; Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni: oyo n’azaala Miryamu ne Sammayi, ne Isuba kitaawe wa Esutemoa. 13C1H004.018 And his wife Jehudijah bare Jered the father of Gedor, and Heber the father of Socho, and Jekuthiel the father of Zanoah. And these are the sons of Bithiah the daughter of Pharaoh, which Mered took. %%% Ne mukazi we Omuyudaaya n'azaala Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanowa. Awo abo be batabani ba Bisiya muwala wa Falaawo, Meredi gwe yawasa. 13C1H004.019 And the sons of his wife Hodiah the sister of Naham, the father of Keilah the Garmite, and Eshtemoa the Maachathite. %%% Ne batabani ba muka Kodiya mwannyina Nakamu ye kitaawe wa Keyira Omugaluni, ne Esutemoa Omumaakasi. 13C1H004.020 And the sons of Shimon were, Amnon, and Rinnah, Benhanan, and Tilon. And the sons of Ishi were, Zoheth, and Benzoheth. %%% Ne batabani ba Simoni; Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi. Ne batabani ba Isi; Zokesi ne Benizokesi. 13C1H004.021 The sons of Shelah the son of Judah were, Er the father of Lecah, and Laadah the father of Mareshah, and the families of the house of them that wrought fine linen, of the house of Ashbea, %%% Batabani ba Seera mutabani wa Yuda; Eri kitaawe wa Leka, ne Laada kitaawe wa Malesa, n'ebika eby'ennyumba yaabo abaaluka bafuta ennungi, eby'ennyumba ya Asubeya; 13C1H004.022 And Jokim, and the men of Chozeba, and Joash, and Saraph, who had the dominion in Moab, and Jashubilehem. And these are ancient things. %%% ne Yokimu, n'abasajja ab'e Kozeba, ne Yowaasi, ne Salafu, abaafuganga mu Mowaabu, ne Yasubirekemu. Era ebigambo ebyo bya dda. 13C1H004.023 These were the potters, and those that dwelt among plants and hedges: there they dwelt with the king for his work. %%% Abo be baali abajoona, era abaatuula mu Netayimu ne mu Gedera: eyo gye baabeeranga ne kabaka olw'omulimu gwe. 13C1H004.024 The sons of Simeon were, Nemuel, and Jamin, Jarib, Zerah, and Shaul: %%% Batabani ba Simyoni: Nemweri, ne Yanini, Yalibu, Zeera, Sawuli: 13C1H004.025 Shallum his son, Mibsam his son, Mishma his son. %%% Sallumu mutabani we, Mibusamu mutabani we, Misuma mutabani we. 13C1H004.026 And the sons of Mishma; Hamuel his son, Zacchur his son, Shimei his son. %%% Ne batabani ba Misuma; Kammweri mutabani we, Zakkuli mutabani we, Simeeyi mutabani we. 13C1H004.027 And Shimei had sixteen sons and six daughters; but his brethren had not many children, neither did all their family multiply, like to the children of Judah. %%% Simeeyi n'azaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga n'ab'obuwala mukaaga; naye baganda be tebaazaala baana bangi, so n'ekika kyabwe kyonna tekyayala okwenkana abaana ba Yuda. 13C1H004.028 And they dwelt at Beersheba, and Moladah, and Hazarshual, %%% Ne babeeranga e Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuali; 13C1H004.029 And at Bilhah, and at Ezem, and at Tolad, %%% ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi; 13C1H004.030 And at Bethuel, and at Hormah, and at Ziklag, %%% Besweri ne Koluma, ne Zikulagi; 13C1H004.031 And at Bethmarcaboth, and Hazarsusim, and at Bethbirei, and at Shaaraim. These were their cities unto the reign of David. %%% ne Besumalukabosi, ne Kazalususimu, ne Besubiri, ne Saalayimu. Ebyo bye byali ebibuga okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 13C1H004.032 And their villages were, Etam, and Ain, Rimmon, and Tochen, and Ashan, five cities: %%% N'ebyalo byabwe byali Etamu, ne Ayini, Limmoni, ne Tokeni, ne Asani, ebibuga bitaano: 13C1H004.033 And all their villages that were round about the same cities, unto Baal. These were their habitations, and their genealogy. %%% n'ebyalo byabwe byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuusa e Baali. Ago ge gaali amaka gaabwe, era bamanyi amannya ga bajjajjaabwe. 13C1H004.034 And Meshobab, and Jamlech, and Joshah, the son of Amaziah, %%% Ne Mesobabu, ne Yamuleki, ne Yosa mutabani wa Amaziya; 13C1H004.035 And Joel, and Jehu the son of Josibiah, the son of Seraiah, the son of Asiel, %%% ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, mutabani wa Seraya, mutabani wa Asyeri; 13C1H004.036 And Elioenai, and Jaakobah, and Jeshohaiah, and Asaiah, and Adiel, and Jesimiel, and Benaiah, %%% ne Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya; 13C1H004.037 And Ziza the son of Shiphi, the son of Allon, the son of Jedaiah, the son of Shimri, the son of Shemaiah; %%% ne Ziza mutabani wa Sifi, mutabani wa Alloni, mutabani wa Yedaya, mutabani wa Simuli, mutabani wa Semaaya; 13C1H004.038 These mentioned by their names were princes in their families: and the house of their fathers increased greatly. %%% abo abaatuddwa amannya gaabwe baabanga bakulu mu bika byabwe: n'ennyumba za bajjajjaabwe ne zeeyongeranga nnyo. 13C1H004.039 And they went to the entrance of Gedor, even unto the east side of the valley, to seek pasture for their flocks. %%% Ne bajja awayingirwa mu Gedoli, ku luuyi lw'ekiwonvu olw'ebuvanjuba, okunoonyeza ebisibo byabwe omuddo. 13C1H004.040 And they found fat pasture and good, and the land was wide, and quiet, and peaceable; for they of Ham had dwelt there of old. %%% Ne balaba omuddo omugimu omulungi, era ensi yali ngazi era ng'eteredde era nga mirembe; kubanga abaabeeranga omwo olubereberye baali ba Kaamu. 13C1H004.041 And these written by name came in the days of Hezekiah king of Judah, and smote their tents, and the habitations that were found there, and destroyed them utterly unto this day, and dwelt in their rooms: because there was pasture there for their flocks. %%% Era abo abawandiikiddwa amannya gaabwe bajja ku mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne balumba eweema zaabwe, n'Abamewuni abaalabikayo, ne babazikiririza ddala, ne leero, ne babeera mu kifo kyabwe: kubanga ng'eriyo omuddo ogw'ebisibo byabwe. 13C1H004.042 And some of them, even of the sons of Simeon, five hundred men, went to mount Seir, having for their captains Pelatiah, and Neariah, and Rephaiah, and Uzziel, the sons of Ishi. %%% Awo abamu ku bo, ku batabani ba Simyoni, abasajja ebikumi bitaano, ne bagenda ku lusozi Seyiri, nga balina abakulu baabwe Peratiya ne Neyaliya ne Lefaya ne Wuziyeeri, batabani ba Isi. 13C1H004.043 And they smote the rest of the Amalekites that were escaped, and dwelt there unto this day. %%% Ne bakuba ekitundu ky'Abamaleki ekyafikkawo ekyawona, ne babeera eyo ne leero. 13C1H005.001 Now the sons of Reuben the firstborn of Israel, (for he was the firstborn; but, forasmuch as he defiled his father's bed, his birthright was given unto the sons of Joseph the son of Israel: and the genealogy is not to be reckoned after the birthright. %%% Ne batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri, (kubanga ye yali omubereberye; naye kubanga yayonoona ekiriri kya kitaawe, eby'okuzaalibwa kwe okw'olubereberye batabani ba Yusufu mutabani wa Isiraeri kyebaava babiweebwa; so taviibwako okubala amannya ng'okuzaalibwa okw'olubereberye bwe kwali. 13C1H005.002 For Judah prevailed above his brethren, and of him came the chief ruler; but the birthright was Joseph's:) %%% Kubanga Yuda yasinga baganda be, era mu ye mwe mwava omulangira; naye eby'okuzaalibwa okw'olubereberye byali bya Yusufu:) 13C1H005.003 The sons, I say, of Reuben the firstborn of Israel were, Hanoch, and Pallu, Hezron, and Carmi. %%% batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri; Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi. 13C1H005.004 The sons of Joel; Shemaiah his son, Gog his son, Shimei his son, %%% Batabani ba Yoweeri; Semaaya mutabani we, Gogi mutabani we, Simeeyi mutabani we; 13C1H005.005 Micah his son, Reaia his son, Baal his son, %%% Mikka mutabani we, Leyaya mutabani we, Baali mutabani we; 13C1H005.006 Beerah his son, whom Tilgathpilneser king of Assyria carried away captive: he was prince of the Reubenites. %%% Beera mutabani we, Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli gwe yatwala nga musibe: ye yali omukulu w'Abalewubeeni. 13C1H005.007 And his brethren by their families, when the genealogy of their generations was reckoned, were the chief, Jeiel, and Zechariah, %%% Ne baganda be ng'enda zaabwe bwe zaali, okuzaalibwa kwabwe bwe kwabalibwa; omukulu Yeyeri, ne Zekkaliya, 13C1H005.008 And Bela the son of Azaz, the son of Shema, the son of Joel, who dwelt in Aroer, even unto Nebo and Baalmeon: %%% ne Bera mutabani wa Azazi, mutabani wa Sema, mutabani wa Yoweeri eyabeeranga mu Aloweri, okutuusa e Nebo ne Baalumyoni: 13C1H005.009 And eastward he inhabited unto the entering in of the wilderness from the river Euphrates: because their cattle were multiplied in the land of Gilead. %%% n'ebuvanjuba yabeeranga okutuuka awayingirirwa mu ddungu okuva ku mugga Fulaati: kubanga ebisibo byabwe nga byeyongedde mu nsi ya Gireyaadi. 13C1H005.010 And in the days of Saul they made war with the Hagarites, who fell by their hand: and they dwelt in their tents throughout all the east land of Gilead. %%% Awo ku mirembe gya Sawulo ne balwana n’abakaguli, ne battibwa n'omukono gwabwe ne babeeranga mu weema zaabwe okubuna ensi yonna eri ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Gireyaadi. 13C1H005.011 And the children of Gad dwelt over against them, in the land of Bashan unto Salcah: %%% Awo batabani ba Gaadi ne babeeranga okuboolekera mu nsi y'e Basani okutuusa ku Saleka: 13C1H005.012 Joel the chief, and Shapham the next, and Jaanai, and Shaphat in Bashan. %%% Yoweeri omukulu, ne Safamu ow'okubiri, ne Yanayi, ne Safati mu Basani: 13C1H005.013 And their brethren of the house of their fathers were, Michael, and Meshullam, and Sheba, and Jorai, and Jachan, and Zia, and Heber, seven. %%% ne baganda baabwe ab'omu nda za bajjajjaabwe; Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, musanvu. 13C1H005.014 These are the children of Abihail the son of Huri, the son of Jaroah, the son of Gilead, the son of Michael, the son of Jeshishai, the son of Jahdo, the son of Buz; %%% Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi; Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi; 13C1H005.015 Ahi the son of Abdiel, the son of Guni, chief of the house of their fathers. %%% Aki mutabani wa Abudyeri, mutabani wa Guni, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe. 13C1H005.016 And they dwelt in Gilead in Bashan, and in her towns, and in all the suburbs of Sharon, upon their borders. %%% Ne babeeranga mu Gireyaadi mu Basani, ne mu bibuga byako, ne mu byaIo byonna ebiriraanye Saloni, okutuuka ku nsalo zaabyo. 13C1H005.017 All these were reckoned by genealogies in the days of Jotham king of Judah, and in the days of Jeroboam king of Israel. %%% Abo bonna baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne ku mirembe gya Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri. 13C1H005.018 The sons of Reuben, and the Gadites, and half the tribe of Manasseh, of valiant men, men able to bear buckler and sword, and to shoot with bow, and skilful in war, were four and forty thousand seven hundred and threescore, that went out to the war. %%% Batabani ba Lewubeeni, n'aba Gaadi, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, eky'abasajja abazira, abasajja abaayinza okukwata engabo n'ekitala, n'okulasa n'emitego, era ab'amagezi okulwana, baali obukumi buna mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abaayinza okutabaala. 13C1H005.019 And they made war with the Hagarites, with Jetur, and Nephish, and Nodab. %%% Ne balwana n'Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi, ne Nodabu. 13C1H005.020 And they were helped against them, and the Hagarites were delivered into their hand, and all that were with them: for they cried to God in the battle, and he was intreated of them; because they put their trust in him. %%% Ne bayambwa nga balwana nabo, Abakaguli ne bagabulwa mu mukono gwabwe ne bonna abaali nabo: kubanga baakaabirira Katonda mu lutalo, n'akkiriza okwegayirira kwabwe; kubanga baamwesiga. 13C1H005.021 And they took away their cattle; of their camels fifty thousand, and of sheep two hundred and fifty thousand, and of asses two thousand, and of men an hundred thousand. %%% Ne banyaga ebisibo byabwe; ku ŋŋamira zaabwe obukumi butaano, ne ku ndiga obusiriivu bubiri mu obukumi butaano, ne ku ndogoyi enkumi bbiri, ne ku bantu kasiriivu. 13C1H005.022 For there fell down many slain, because the war was of God. And they dwelt in their steads until the captivity. %%% Kubanga bangi abaagwa nga battiddwa kubanga olutalo lwava eri Katonda. Ne babeeranga mu kifo kyabwe okutuuka ku kutwalibwa. 13C1H005.023 And the children of the half tribe of Manasseh dwelt in the land: they increased from Bashan unto Baalhermon and Senir, and unto mount Hermon. %%% Awo abaana b'ekitundu ky'ekika kya Manase ne babeeranga mu nsi: ne bayala okuva ku Basani ne batuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni. 13C1H005.024 And these were the heads of the house of their fathers, even Epher, and Ishi, and Eliel, and Azriel, and Jeremiah, and Hodaviah, and Jahdiel, mighty men of valour, famous men, and heads of the house of their fathers. %%% Era bano be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe; Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja ab'amaanyi abazira, abaatiikirivu, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe. 13C1H005.025 And they transgressed against the God of their fathers, and went a whoring after the gods of the people of the land, whom God destroyed before them. %%% Ne basobya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagenda nga benda okugoberera bakatonda b'amawanga ag'omu nsi, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. 13C1H005.026 And the God of Israel stirred up the spirit of Pul king of Assyria, and the spirit of Tilgathpilneser king of Assyria, and he carried them away, even the Reubenites, and the Gadites, and the half tribe of Manasseh, and brought them unto Halah, and Habor, and Hara, and to the river Gozan, unto this day. %%% Awo Katonda wa Isiraeri n'akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w'e Bwasuli n'omwoyo gwa Tirugasupiruneseri kabaka w’e Bwasuli, n'abatwala n'abaggyayo, Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase n'abaleeta e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero. 13C1H006.001 The sons of Levi; Gershon, Kohath, and Merari. %%% Batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali. 13C1H006.002 And the sons of Kohath; Amram, Izhar, and Hebron, and Uzziel. %%% Ne batabani ba Kokasi; AmuIaamu, Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri. 13C1H006.003 And the children of Amram; Aaron, and Moses, and Miriam. The sons also of Aaron; Nadab, and Abihu, Eleazar, and Ithamar. %%% N'abaana ba Amulaamu; Alooni ne Musa ne Miryamu. Ne batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 13C1H006.004 Eleazar begat Phinehas, Phinehas begat Abishua, %%% Eriyazaali n'azaala Finekaasi, Finekaasi n'azaala Abisuwa; 13C1H006.005 And Abishua begat Bukki, and Bukki begat Uzzi, %%% Abisuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Uzzi; 13C1H006.006 And Uzzi begat Zerahiah, and Zerahiah begat Meraioth, %%% Uzzi n'azaala Zeraluya, Zerakiya n'azaala Merayoosi; 13C1H006.007 Meraioth begat Amariah, and Amariah begat Ahitub, %%% Merayoosi n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu; 13C1H006.008 And Ahitub begat Zadok, and Zadok begat Ahimaaz, %%% Akitubu n'azaala Zadooki, Zadooki n'azaala Akimaazi; 13C1H006.009 And Ahimaaz begat Azariah, and Azariah begat Johanan, %%% Akimaazi n'azaala Azaliya, Azaliya n'azaala Yokanani; 13C1H006.010 And Johanan begat Azariah, (he it is that executed the priest's office in the temple that Solomon built in Jerusalem:) %%% Yokanani n'azaala Azaliya, (oyo ye yakolanga omulimu ogw'obwakabona mu nnyumba Sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi): 13C1H006.011 And Azariah begat Amariah, and Amariah begat Ahitub, %%% Azaliya n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu; 13C1H006.012 And Ahitub begat Zadok, and Zadok begat Shallum, %%% Akitubu n'azaala Zadooki, Zadooki n'azaala Sallumu; 13C1H006.013 And Shallum begat Hilkiah, and Hilkiah begat Azariah, %%% Sallumu n'azaala Kirukiya, Kirukiya n'azaala Azaliya; 13C1H006.014 And Azariah begat Seraiah, and Seraiah begat Jehozadak, %%% Azaliya n'azaala Seraya, Seraya n'azaala Yekozadaki; 13C1H006.015 And Jehozadak went into captivity, when the LORD carried away Judah and Jerusalem by the hand of Nebuchadnezzar. %%% Yekozadaki n'atwalibwa nga musibe, Mukama bwe yatwalira ddala Yuda ne Yerusaalemi n'omukono gwa Nebukadduneeza. 13C1H006.016 The sons of Levi; Gershom, Kohath, and Merari. %%% Batabani ba Leevi; Gerusomu, Kokasi, ne Merali. 13C1H006.017 And these be the names of the sons of Gershom; Libni, and Shimei. %%% Era gano ge mannya ga batabani ba Gerusomu; Libuni ne Simeeyi. 13C1H006.018 And the sons of Kohath were, Amram, and Izhar, and Hebron, and Uzziel. %%% Ne batabani ba Kokasi ye Amulaamu ne Izukali ne Kebulooni ne Wuziyeeri. 13C1H006.019 The sons of Merari; Mahli, and Mushi. And these are the families of the Levites according to their fathers. %%% Batabani ba Merali; Makuli ne Musi. Era ebyo bye bika by'Abaleevi ng'enda za bajjajjaabwe bwe zaali. 13C1H006.020 Of Gershom; Libni his son, Jahath his son, Zimmah his son, %%% Abaava ku Gerusomu; Libuni mutabani we, Yakasi mutabani we, Zimma mutabani we: 13C1H006.021 Joah his son, Iddo his son, Zerah his son, Jeaterai his son. %%% Yowa mutabani we, Iddo mutabani we, Zeera mutabani we, Yeaserayi mutabani we. 13C1H006.022 The sons of Kohath; Amminadab his son, Korah his son, Assir his son, %%% Batabani ba Kokasi; Amminadaabu mutabani we, Koola mutabani we, Assiri mutabani we; 13C1H006.023 Elkanah his son, and Ebiasaph his son, and Assir his son, %%% Erukaana Emutabani we, ne Ebiyasaafu mutabani we, ne Assiri mutabani we; 13C1H006.024 Tahath his son, Uriel his son, Uzziah his son, and Shaul his son. %%% Takasi mutabani we, Uliyeri mutabani we, Uzziya mutabani we, ne Sawuli mutabani we. 13C1H006.025 And the sons of Elkanah; Amasai, and Ahimoth. %%% Ne batabani ba Erukaana; Amasayi, ne Akimosi. 13C1H006.026 As for Elkanah: the sons of Elkanah; Zophai his son, and Nahath his son, %%% N'ebya Erukaana: batabani ba Erukaana; Zofayi mutabani we, ne Nakasi mutabani we; 13C1H006.027 Eliab his son, Jeroham his son, Elkanah his son. %%% Eriyaabu mutabani we, Yerokamu mutabani we, Erukaana mutabani we. 13C1H006.028 And the sons of Samuel; the firstborn Vashni, and Abiah. %%% Ne batabani ba Samwiri; omubereberye Yoweeri, n'ow'okubiri Abiya. 13C1H006.029 The sons of Merari; Mahli, Libni his son, Shimei his son, Uzza his son, %%% Batabani ba Merali; Makuli, Libuni mutabani we, Simeeyi mutabani we, Uzza mutabani we; 13C1H006.030 Shimea his son, Haggiah his son, Asaiah his son. %%% Simeeya mutababi we, Kaggiya mutabani we, Asaya mutabani we. 13C1H006.031 And these are they whom David set over the service of song in the house of the LORD, after that the ark had rest. %%% Era Dawudi be yafuula abakulu b'omulimu ogw'okutimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng'emaze okuwummula, be bano. 13C1H006.032 And they ministered before the dwelling place of the tabernacle of the congregation with singing, until Solomon had built the house of the LORD in Jerusalem: and then they waited on their office according to their order. %%% Ne baweereza n'ennyimba mu maaso g'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu okutuusa Sulemaani lwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi: ne beesibira omulimu gwabwe ng'ebisanja byabwe bwe byali. 13C1H006.033 And these are they that waited with their children. Of the sons of the Kohathites: Heman a singer, the son of Joel, the son of Shemuel, %%% Era bano be beesibiranga ne batabani baabwe. Ku batabani b'Abakokasi: Kemani omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, mutabani wa Samwiri; 13C1H006.034 The son of Elkanah, the son of Jeroham, the son of Eliel, the son of Toah, %%% mutabani wa Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriyeri, mutabani wa Toowa; 13C1H006.035 The son of Zuph, the son of Elkanah, the son of Mahath, the son of Amasai, %%% mutabani wa Zufu, mutabani wa Erukaana, mutabani wa Makasi, mutabani wa Amasayi; 13C1H006.036 The son of Elkanah, the son of Joel, the son of Azariah, the son of Zephaniah, %%% mutabani wa Erukaana, mutabani wa Yoweeri, mutabani wa Azaliya, mutabani wa Zeffaniya; 13C1H006.037 The son of Tahath, the son of Assir, the son of Ebiasaph, the son of Korah, %%% mutabani wa Takasi, mutabani wa Assiri, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola; 13C1H006.038 The son of Izhar, the son of Kohath, the son of Levi, the son of Israel. %%% mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri. 13C1H006.039 And his brother Asaph, who stood on his right hand, even Asaph the son of Berachiah, the son of Shimea, %%% Ne muganda we Asafu, eyayimiriranga ku mukono gwe ogwa ddyo, Asafu mutabani wa Berekiya, mutabani wa Simeeya; 13C1H006.040 The son of Michael, the son of Baaseiah, the son of Malchiah, %%% mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Baaseya, mutabani wa Malukiya; 13C1H006.041 The son of Ethni, the son of Zerah, the son of Adaiah, %%% mutabani wa Esuni, mutabani wa Zeera, mutabani wa Adaaya; 13C1H006.042 The son of Ethan, the son of Zimmah, the son of Shimei, %%% mutabani wa Esani, mutabani wa Zimma, mutabani wa Simeeyi; 13C1H006.043 The son of Jahath, the son of Gershom, the son of Levi. %%% mutabani wa Yakasi, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Leevi. 13C1H006.044 And their brethren the sons of Merari stood on the left hand: Ethan the son of Kishi, the son of Abdi, the son of Malluch, %%% Ne ku mukono gwabwe ogwa kkono baganda baabwe batabani ba Merali: Esani mutabani wa Kiisi, mutabani wa Abudi, mutabani wa Malluki; Ne ku mukono gwabwe ogwa kkono baganda baabwe batabani ba Merali: Esani mutabani wa Kiisi, mutabani wa Abudi, mutabani wa Malluki; 13C1H006.045 The son of Hashabiah, the son of Amaziah, the son of Hilkiah, %%% mutabani wa Kasukabiya, mutabani wa Amaziya, mutabani wa Kirukiya; 13C1H006.046 The son of Amzi, the son of Bani, the son of Shamer, %%% mutabani wa Amuzi, mutabani wa Bani, mutabani wa Semeri; 13C1H006.047 The son of Mahli, the son of Mushi, the son of Merari, the son of Levi. %%% mutabani wa Makuli, mutabani wa Musi, mutabani wa Merali, mutabani wa Leevi. 13C1H006.048 Their brethren also the Levites were appointed unto all manner of service of the tabernacle of the house of God. %%% Ne baganda baabwe Abaleevi ne bateekerwawo okuweereza kwonna okw'omu weema ey'ennyumba ya Katonda. 13C1H006.049 But Aaron and his sons offered upon the altar of the burnt offering, and on the altar of incense, and were appointed for all the work of the place most holy, and to make an atonement for Israel, according to all that Moses the servant of God had commanded. %%% Naye Alooni ne batabani be, ne baweerangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky'okwoterezangako obubaane, olw'omulimu gwonna ogw'omu kifo ekitukuvu ennyo, n'okutangiriranga Isiraeri, nga byonna bwe biri Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. 13C1H006.050 And these are the sons of Aaron; Eleazar his son, Phinehas his son, Abishua his son, %%% Era bano be batabani ba Alooni; Eriyazaali mutabani we, Finekaasi mutabani we, Abisuwa mutabani we; 13C1H006.051 Bukki his son, Uzzi his son, Zerahiah his son, %%% Bukki mutabani we, Uzzi mutabani we, Zerakiya mutabani we; 13C1H006.052 Meraioth his son, Amariah his son, Ahitub his son, %%% Merayoosi mutabani we, Amaliya mutabani we, Akitubu mutabani we; 13C1H006.053 Zadok his son, Ahimaaz his son. %%% Zadooki mutabani we, Akimaazi mutabani we. 13C1H006.054 Now these are their dwelling places throughout their castles in their coasts, of the sons of Aaron, of the families of the Kohathites: for theirs was the lot. %%% Era bino bye bifo byabwe eby'okubeeramu, ng'ensiisira zaabwe bwe zaali mu nsalo zaabwe: ne bawa batabani ba Alooni, ab'oku nda z'Abakokasi, kubanga abo akalulu be kaasooka okugwiira, 13C1H006.055 And they gave them Hebron in the land of Judah, and the suburbs thereof round about it. %%% abo ne babawa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde: 13C1H006.056 But the fields of the city, and the villages thereof, they gave to Caleb the son of Jephunneh. %%% naye ennimiro ez'oku kibuga n'ebyalo byako, ne babiwa Kalebu mutabani wa Ye fune. 13C1H006.057 And to the sons of Aaron they gave the cities of Judah, namely, Hebron, the city of refuge, and Libnah with her suburbs, and Jattir, and Eshtemoa, with their suburbs, %%% Ne batabani ba Alooni ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Kebbulooni; era ne Libuna n'ebyalo byako, ne Yattiri, ne Esutemoa n'ebyalo byako; 13C1H006.058 And Hilen with her suburbs, Debir with her suburbs, %%% ne Kireni n'ebyalo byako, Debiri n'ebyalo byako 13C1H006.059 And Ashan with her suburbs, and Bethshemesh with her suburbs: %%% ne Asani n'ebyalo byako, ne Besusemesi n'ebyalo byako; 13C1H006.060 And out of the tribe of Benjamin; Geba with her suburbs, and Alemeth with her suburbs, and Anathoth with her suburbs. All their cities throughout their families were thirteen cities. %%% n'ebyaggibwa ku kika kya Benyamini; Geba n'ebyalo byako, ne Allemesi n'ebyalo byako, ne Anasosi n'ebyalo byako. Ebibuga byabwe byonna okubuna enda zaabwe zonna byali ebibuga kkumi na bisatu. 13C1H006.061 And unto the sons of Kohath, which were left of the family of that tribe, were cities given out of the half tribe, namely, out of the half tribe of Manasseh, by lot, ten cities. %%% Ne batabani ba Kokasi abalala ne baweebwa n'obululu ebibuga kkumi ebyaggibwa ku nda y'ekika, ku kitundu ky'ekika, ekitundu kya Manase. 13C1H006.062 And to the sons of Gershom throughout their families out of the tribe of Issachar, and out of the tribe of Asher, and out of the tribe of Naphtali, and out of the tribe of Manasseh in Bashan, thirteen cities. %%% Ne batabani ba Gerusomu ng'enda zaabwe bwe zaali ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu, ebyaggibwa ku kika kya Isakaali ne ku kika kya Aseri ne ku kika kya Nafutaali ne ku kika kya Manase mu Basani. 13C1H006.063 Unto the sons of Merari were given by lot, throughout their families, out of the tribe of Reuben, and out of the tribe of Gad, and out of the tribe of Zebulun, twelve cities. %%% Batabani ba Merali ne baweebwa n'obululu ng'enda zaabwe bwe zaali ebibuga kkumi na bibiri, ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni ne ku kika kya Gaadi ne ku kika kya Zebbulooni. 13C1H006.064 And the children of Israel gave to the Levites these cities with their suburbs. %%% Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi ebibuga n'ebyalo byabyo. 13C1H006.065 And they gave by lot out of the tribe of the children of Judah, and out of the tribe of the children of Simeon, and out of the tribe of the children of Benjamin, these cities, which are called by their names. %%% Ne bawa n'obululu ebibuga ebyaggibwa ku kika ky'abaana ba Yuda ne ku kika ky'abaana ba Simyoni ne ku kika ky'abaana ba Benyamini, biibino ebyatuddwa amannya gaabyo. 13C1H006.066 And the residue of the families of the sons of Kohath had cities of their coasts out of the tribe of Ephraim. %%% Era enda ezimu ez'oku batabani ba Kokasi baalina ebibuga eby'oku nsalo zaabwe ebyaggibwa ku kika kya Efulayimu. 13C1H006.067 And they gave unto them, of the cities of refuge, Shechem in mount Ephraim with her suburbs; they gave also Gezer with her suburbs, %%% Ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ebyalo byako: ne Gezeri n'ebyalo byako; 13C1H006.068 And Jokmeam with her suburbs, and Bethhoron with her suburbs, %%% ne Yokumyamu n'ebyalo byako, ne Besukolooni n'ebyalo byako; 13C1H006.069 And Aijalon with her suburbs, and Gathrimmon with her suburbs: %%% ne Ayalooni n'ebyalo byako, ne Gasulimmoni n'ebyalo byako: 13C1H006.070 And out of the half tribe of Manasseh; Aner with her suburbs, and Bileam with her suburbs, for the family of the remnant of the sons of Kohath. %%% n'ebyaggibwa ku kitundu ky'ekika kya Manase; Aneri n'ebyalo byako, ne Biryamu n'ebyalo byako, okuba eby'abo abasigaddewo ku nda ya batabani ba Kokasi. 13C1H006.071 Unto the sons of Gershom were given out of the family of the half tribe of Manasseh, Golan in Bashan with her suburbs, and Ashtaroth with her suburbs: %%% Batabani ba Gerusomu ne baweebwa ebyaggibwa ku nda y'ekitundu ky'ekika kya Manase, Golani mu Basani n'ebyalo byako, ne Asutaloosi n'ebyalo byako: 13C1H006.072 And out of the tribe of Issachar; Kedesh with her suburbs, Daberath with her suburbs, %%% n'ebyaggibwa ku kika kya Isakaali; Kedesi n'ebyalo byako, Daberasi n'ebyalo byako, 13C1H006.073 And Ramoth with her suburbs, and Anem with her suburbs: %%% ne Lamosi n'ebyalo byako, ne Anemu n'ebyalo byako: 13C1H006.074 And out of the tribe of Asher; Mashal with her suburbs, and Abdon with her suburbs, %%% ne ku kika kya Aseri; Masali n'ebyalo byako, ne Abudoni n'ebyalo byako; 13C1H006.075 And Hukok with her suburbs, and Rehob with her suburbs: %%% ne Kukoki n'ebyalo byako, ne Lekobu n'ebyalo byako: 13C1H006.076 And out of the tribe of Naphtali; Kedesh in Galilee with her suburbs, and Hammon with her suburbs, and Kirjathaim with her suburbs. %%% ne ku kika kya Nafutaali; Kedesi eky'omu Ggaliraaya n'ebyalo byako, ne Kammoni n'ebyalo byako, ne Kiriyasayimu n'ebyalo byako. 13C1H006.077 Unto the rest of the children of Merari were given out of the tribe of Zebulun, Rimmon with her suburbs, Tabor with her suburbs: %%% N'Abaleevi abasigaddewo, batabani ba Merali, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Zebbulooni, Limmono n'ebyalo byako, Taboli n'ebyalo byako: 13C1H006.078 And on the other side Jordan by Jericho, on the east side of Jordan, were given them out of the tribe of Reuben, Bezer in the wilderness with her suburbs, and Jahzah with her suburbs, %%% era emitala wa Yoludaani e Yeriko, ku luuyi lwa Yoludaani olw'ebuvanjuba, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni, Bezeri ekiri mu ddungu n'ebyalo byako, ne Yaza n'ebyalo byako, 13C1H006.079 Kedemoth also with her suburbs, and Mephaath with her suburbs: %%% ne Kedemosi n'ebyalo byako, ne Mefaasi n'ebyalo byako: 13C1H006.080 And out of the tribe of Gad; Ramoth in Gilead with her suburbs, and Mahanaim with her suburbs, %%% n'ebyaggibwa ku kika kya Gaadi; Lamosi ekiri mu Gireyaadi n'ebyalo byako, ne Makanayimu n'ebyalo byako, 13C1H006.081 And Heshbon with her suburbs, and Jazer with her suburbs. %%% ne Kesuboni n'ebyalo byako, ne Yazeri n'ebyalo byako. 13C1H007.001 Now the sons of Issachar were, Tola, and Puah, Jashub, and Shimrom, four. %%% N'ebyaggibwa ku batabaai ba Isakaali; Tola, ne Puwa, Yasubu, ne Simuloni, bina. 13C1H007.002 And the sons of Tola; Uzzi, and Rephaiah, and Jeriel, and Jahmai, and Jibsam, and Shemuel, heads of their father's house, to wit, of Tola: they were valiant men of might in their generations; whose number was in the days of David two and twenty thousand and six hundred. %%% Ne batabani ba Tola; Uzzi ne Lefaya, ne Yeryeri, ne Yamayi, ne Ibusamu, ne Semweri, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, aba Tola; abasajja ab'amaanyi abazira mu mirembe gyabwe: ku mirembe gya Dawudi omuwendo gwabwe gwali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu lukaaga. 13C1H007.003 And the sons of Uzzi; Izrahiah: and the sons of Izrahiah; Michael, and Obadiah, and Joel, Ishiah, five: all of them chief men. %%% Ne batabani ba Uzzi; Izulakiya: ne batabani ba Izulakiya; Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri, Issiya, bataano; bonna basajja bakulu. 13C1H007.004 And with them, by their generations, after the house of their fathers, were bands of soldiers for war, six and thirty thousand men: for they had many wives and sons. %%% Era ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, ebibiina by'omu ggye byali wamu nabo olw'okulwana, obukumi busatu mu kakaaga: kubanga baalina abakazi bangi n'abaana bangi. 13C1H007.005 And their brethren among all the families of Issachar were valiant men of might, reckoned in all by their genealogies fourscore and seven thousand. %%% Ne baganda baabwe bonna, ab'omu luggya lwa Isakaali, nga babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, abasajja ab'amaanyi abazira, baali obukumi munaana mu kasanvu. 13C1H007.006 The sons of Benjamin; Bela, and Becher, and Jediael, three. %%% Batabani ba Beayamini; Bera, ne Bekeri, ne Yediyayeri, basatu. 13C1H007.007 And the sons of Bela; Ezbon, and Uzzi, and Uzziel, and Jerimoth, and Iri, five; heads of the house of their fathers, mighty men of valour; and were reckoned by their genealogies twenty and two thousand and thirty and four. %%% Ne batabani ba Bera; Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi, ne Iri, bataano; emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira; era baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana. 13C1H007.008 And the sons of Becher; Zemira, and Joash, and Eliezer, and Elioenai, and Omri, and Jerimoth, and Abiah, and Anathoth, and Alameth. All these are the sons of Becher. %%% Ne batabani ba Bekeri; Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi, ne Alemesi. Abo bonna baali batabani ba Bekeri. 13C1H007.009 And the number of them, after their genealogy by their generations, heads of the house of their fathers, mighty men of valour, was twenty thousand and two hundred. %%% Era baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nga bwe baaliraana, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, obukumi bubiri mu ebikumi bibiri. 13C1H007.010 The sons also of Jediael; Bilhan: and the sons of Bilhan; Jeush, and Benjamin, and Ehud, and Chenaanah, and Zethan, and Tharshish, and Ahishahar. %%% Ne batabani ba Yediyayeri; Birukani; ne batabani ba Birukani; Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi, ne Akisakali. 13C1H007.011 All these the sons of Jediael, by the heads of their fathers, mighty men of valour, were seventeen thousand and two hundred soldiers, fit to go out for war and battle. %%% Abo bonna baali baana ba Yediyayeri, ng'emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe bwe gyali, abasajja ab'amaanyi abazira, kakumi mu kasanvu mu ebikumi bibiri, abayinza okutabaala mu ggye okulwana. 13C1H007.012 Shuppim also, and Huppim, the children of Ir, and Hushim, the sons of Aher. %%% Suppimu naye, ne Kuppimu, batabani ba Iri, Kusimu, batabani ba Akeri. 13C1H007.013 The sons of Naphtali; Jahziel, and Guni, and Jezer, and Shallum, the sons of Bilhah. %%% Batabani ba Nafutaali; Yaziyeri, ne Gutu, ne Yazeri, ne Sallumu, batabani ba Biruka. 13C1H007.014 The sons of Manasseh; Ashriel, whom she bare: (but his concubine the Aramitess bare Machir the father of Gilead: %%% Batabani ba Manase; Asuliyeri mukazi we gwe yazaala: (muzaana we Omwalamu yazaala Makiri kitaawe wa Gireyaadi: 13C1H007.015 And Machir took to wife the sister of Huppim and Shuppim, whose sister's name was Maachah;) and the name of the second was Zelophehad: and Zelophehad had daughters. %%% Makiri n'awasa omukazi ow'oku Kuppimu ne Suppimu, erinnya lya muganda we Maaka;) n'erinnya ly'ow'okubiri lyali Zerofekadi: Zerofekadi n'azaala abaana ba buwala. 13C1H007.016 And Maachah the wife of Machir bare a son, and she called his name Peresh; and the name of his brother was Sheresh; and his sons were Ulam and Rakem. %%% Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Peresi; n'erinnya lya muganda we lyali Seresi; ne batabani be Ulamu ne Lakemu. 13C1H007.017 And the sons of Ulam; Bedan. These were the sons of Gilead, the son of Machir, the son of Manasseh. %%% Ne batabani ba Ulamu; Bedani. Abo be baali batabani ba Gireyaadi mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase. 13C1H007.018 And his sister Hammoleketh bare Ishod, and Abiezer, and Mahalah. %%% Ne mwannyina Kammolekesi n'azaala Isukodi, ne Abiezeri, ne Makula. 13C1H007.019 And the sons of Shemidah were, Ahian, and Shechem, and Likhi, and Aniam. %%% Ne batabani ba Semida ye Akyani, ne Sekemu, ne Liki, ne Aniyamu. 13C1H007.020 And the sons of Ephraim; Shuthelah, and Bered his son, and Tahath his son, and Eladah his son, and Tahath his son, %%% Ne batabani ba Efulayimu; Susera, ne Beredi mutabani we, ne Takasi mutabani we, ne Ereyadda mutabani we, ne Takasi mutabani we, 13C1H007.021 And Zabad his son, and Shuthelah his son, and Ezer, and Elead, whom the men of Gath that were born in that land slew, because they came down to take away their cattle. %%% ne Zabadi mutabani we, ne Susera mutabani we, ne Ezeri, ne Ereyaddi, abasajja ab'e Gaasi abaazaalibwa mu nsi be batta, kubanga baaserengeta okubaggyako ebisibo byabwe. 13C1H007.022 And Ephraim their father mourned many days, and his brethren came to comfort him. %%% Efulayimu kitaabwe n'akungubagira ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza. 13C1H007.023 And when he went in to his wife, she conceived, and bare a son, and he called his name Beriah, because it went evil with his house. %%% N'ayingira eri mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi. 13C1H007.024 (And his daughter was Sherah, who built Bethhoron the nether, and the upper, and Uzzensherah.) %%% Ne muwala we yali Seera, eyazimba Besukoloni, ekya wansi n'eky'engulu, ne Uzzenuseera. 13C1H007.025 And Rephah was his son, also Resheph, and Telah his son, and Tahan his son, %%% Ne Leefa ye yali mutabani we, ne Lesefu, ne Teera mutabani we, ne Takani mutabani we; 13C1H007.026 Laadan his son, Ammihud his son, Elishama his son, %%% Ladani mutabani we, Ammikudi mutabani we, Erisaama mutabani we; 13C1H007.027 Non his son, Jehoshuah his son, %%% Nuni mutabani we, Yoswa mutabani we. 13C1H007.028 And their possessions and habitations were, Bethel and the towns thereof, and eastward Naaran, and westward Gezer, with the towns thereof; Shechem also and the towns thereof, unto Gaza and the towns thereof: %%% N'ebifo byabwe bye baalya era bye baabeerangamu bye bino; Beseri n'ebibuga byako, n'ebuvanjuba Naalani, n'ebugwanjuba Gezeri, n'ebibuga byako; era ne Sekemu n'ebibuga byako, okutuusa ku Azza n'ebibuga byako: 13C1H007.029 And by the borders of the children of Manasseh, Bethshean and her towns, Taanach and her towns, Megiddo and her towns, Dor and her towns. In these dwelt the children of Joseph the son of Israel. %%% n'awali ensalo ez'abaana ba Manase Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga. 13C1H007.030 The sons of Asher; Imnah, and Isuah, and Ishuai, and Beriah, and Serah their sister. %%% Batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya; ne Seera mwannyinaabwe. 13C1H007.031 And the sons of Beriah; Heber, and Malchiel, who is the father of Birzavith. %%% Ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri, ye kitaawe wa Biruzayisi. 13C1H007.032 And Heber begat Japhlet, and Shomer, and Hotham, and Shua their sister. %%% Keberi n'azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu, ne Suwa, mwannyinaabwe. 13C1H007.033 And the sons of Japhlet; Pasach, and Bimhal, and Ashvath. These are the children of Japhlet. %%% Ne batabani ba Yafuleti; Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi. Abo be baana ba Yafuleti. 13C1H007.034 And the sons of Shamer; Ahi, and Rohgah, Jehubbah, and Aram. %%% Ne batabani ba Semeri: Aki, ne Loga, Yekubba, ne Alamu. 13C1H007.035 And the sons of his brother Helem; Zophah, and Imna, and Shelesh, and Amal. %%% Ne batabani ba Keremu muganda we; Zofa, ne Imuna, ne Seresi, ne Amali. 13C1H007.036 The sons of Zophah; Suah, and Harnepher, and Shual, and Beri, and Imrah, %%% Batabani ba Zofa; Suwa, ne Kaluneferi; ne Swali, ne Beri, ne Imula; 13C1H007.037 Bezer, and Hod, and Shamma, and Shilshah, and Ithran, and Beera. %%% Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani, ne Beera. 13C1H007.038 And the sons of Jether; Jephunneh, and Pispah, and Ara. %%% Ne batabani ba Yeseri; Yefune, Pisupa, ne Ala. 13C1H007.039 And the sons of Ulla; Arah, and Haniel, and Rezia. %%% Ne batabani ba Ulla; Ala, ne Kanyeri, ne Liziya. 13C1H007.040 All these were the children of Asher, heads of their father's house, choice and mighty men of valour, chief of the princes. And the number throughout the genealogy of them that were apt to the war and to battle was twenty and six thousand men. %%% Abo bonna baali baana ba Aseri, emitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe, abasajja abazira abalonde ab'amaanyi, ab'olubereberye mu bakulu. N'omuwendo gwabwe ogwabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, olw'okukola omulimu ogw'okulwana, gwali abasajja obukumi bubiri mu kakaaga. 13C1H008.001 Now Benjamin begat Bela his firstborn, Ashbel the second, and Aharah the third, %%% Ne Benyamini n'azaala Bera omubereberye we, Asuberi ow'okubiri, ne Akala ow'okusatu; 13C1H008.002 Nohah the fourth, and Rapha the fifth. %%% Noka ow'okuna, ne Lafa ow'okutaano. 13C1H008.003 And the sons of Bela were, Addar, and Gera, and Abihud, %%% Ne Bera yalina batabani be, Addali, ne Gera, ne Abikudi; 13C1H008.004 And Abishua, and Naaman, and Ahoah, %%% ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa; 13C1H008.005 And Gera, and Shephuphan, and Huram. %%% ne Gera, ne Sefufani, ne Kulamu 13C1H008.006 And these are the sons of Ehud: these are the heads of the fathers of the inhabitants of Geba, and they removed them to Manahath: %%% Era bano be batabani ba Ekudi: gino gye mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaali mu Geba, ne babatwala e Manakasi nga basibe: 13C1H008.007 And Naaman, and Ahiah, and Gera, he removed them, and begat Uzza, and Ahihud. %%% ne Naamani ne Akiya ne Gera n'abatwala nga basibe; n'azaala Uzza ne Akikudi. 13C1H008.008 And Shaharaim begat children in the country of Moab, after he had sent them away; Hushim and Baara were his wives. %%% Sakalayimu n'azaala abaana mu nnimiro ya Mowaabu bwe yamala okubasindika; Kusimu ne Baala be baali bakazi be. 13C1H008.009 And he begat of Hodesh his wife, Jobab, and Zibia, and Mesha, and Malcham, %%% N'azaala mu Kodesi mukazi we Yobabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu; 13C1H008.010 And Jeuz, and Shachia, and Mirma. These were his sons, heads of the fathers. %%% ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma. Abo be baali batabani be, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe. 13C1H008.011 And of Hushim he begat Abitub, and Elpaal. %%% N'azaala mu Kusimu Abitubu ne Erupaali. 13C1H008.012 The sons of Elpaal; Eber, and Misham, and Shamed, who built Ono, and Lod, with the towns thereof: %%% Ne batabani ba Erupaali; Eberi ne Misamu ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi, wamu n'ebibuga byako: 13C1H008.013 Beriah also, and Shema, who were heads of the fathers of the inhabitants of Aijalon, who drove away the inhabitants of Gath: %%% ne Beriya ne Sema, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaabeeranga e Ayalooni, abaagoba abo abaali e Gaasi; 13C1H008.014 And Ahio, Shashak, and Jeremoth, %%% ne Akiyo, Sasaki, ne Yeremosi; 13C1H008.015 And Zebadiah, and Arad, and Ader, %%% ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi; 13C1H008.016 And Michael, and Ispah, and Joha, the sons of Beriah; %%% ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka, batabani ba Beriya; 13C1H008.017 And Zebadiah, and Meshullam, and Hezeki, and Heber, %%% ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi; 13C1H008.018 Ishmerai also, and Jezliah, and Jobab, the sons of Elpaal; %%% ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, batabani ba Erupaali; 13C1H008.019 And Jakim, and Zichri, and Zabdi, %%% ne Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi; 13C1H008.020 And Elienai, and Zilthai, and Eliel, %%% ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri; 13C1H008.021 And Adaiah, and Beraiah, and Shimrath, the sons of Shimhi; %%% ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi, batabani ba Simeeyi; 13C1H008.022 And Ishpan, and Heber, and Eliel, %%% ne Isupani, ne Eberi, ne Eryeri; 13C1H008.023 And Abdon, and Zichri, and Hanan, %%% ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani; 13C1H008.024 And Hananiah, and Elam, and Antothijah, %%% ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya; 13C1H008.025 And Iphedeiah, and Penuel, the sons of Shashak; %%% ne Ifudeya, ne Penueri, batabani ba Sasaki; 13C1H008.026 And Shamsherai, and Shehariah, and Athaliah, %%% ne Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya; 13C1H008.027 And Jaresiah, and Eliah, and Zichri, the sons of Jeroham. %%% ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, batabani ba Yerokamu. 13C1H008.028 These were heads of the fathers, by their generations, chief men. These dwelt in Jerusalem. %%% Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe! okubuna emirembe gyabwe, abasajja abakulu: abo baabeeranga mu Yerusaalemi. 13C1H008.029 And at Gibeon dwelt the father of Gibeon; whose wife's name was Maachah: %%% Era kitaawe wa Gibyoni n'abeeranga mu Gibyoni, Yeyeri, mukazi we erinnya lye Maaka: 13C1H008.030 And his firstborn son Abdon, and Zur, and Kish, and Baal, and Nadab, %%% ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Nadabu; 13C1H008.031 And Gedor, and Ahio, and Zacher. %%% ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri. 13C1H008.032 And Mikloth begat Shimeah. And these also dwelt with their brethren in Jerusalem, over against them. %%% Mikuloosi n'azaala Simeeya. Era nabo baabeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, okwolekera baganda baabwe. 13C1H008.033 And Ner begat Kish, and Kish begat Saul, and Saul begat Jonathan, and Malchishua, and Abinadab, and Eshbaal. %%% Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali. 13C1H008.034 And the son of Jonathan was Meribbaal; and Meribbaal begat Micah. %%% Era Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka. 13C1H008.035 And the sons of Micah were, Pithon, and Melech, and Tarea, and Ahaz. %%% Ne batabani ba Mikka; Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi. 13C1H008.036 And Ahaz begat Jehoadah; and Jehoadah begat Alemeth, and Azmaveth, and Zimri; and Zimri begat Moza, %%% Akazi n'azaala Yekoyaada; Yekoyaada n'azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza: 13C1H008.037 And Moza begat Binea: Rapha was his son, Eleasah his son, Azel his son: %%% ne Moza n'azaala Bineya; Lafa ye yali mutabani we, Ereyasa mutabani we, Azeri mutabani we: 13C1H008.038 And Azel had six sons, whose names are these, Azrikam, Bocheru, and Ishmael, and Sheariah, and Obadiah, and Hanan. All these were the sons of Azel. %%% Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amannya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani. Abo bonna baali batabani ba Azeri. 13C1H008.039 And the sons of Eshek his brother were, Ulam his firstborn, Jehush the second, and Eliphelet the third. %%% Ne batabani ba Eseki muganda we; Ulamu omubereberye we, Yewusi ow'okubiri, ne Erifereti ow'okusatu. 13C1H008.040 And the sons of Ulam were mighty men of valour, archers, and had many sons, and sons' sons, an hundred and fifty. All these are of the sons of Benjamin. %%% Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano. Abo bonna baali ku batabani ba Benyamini. 13C1H009.001 So all Israel were reckoned by genealogies; and, behold, they were written in the book of the kings of Israel and Judah, who were carried away to Babylon for their transgression. %%% Awo Isiraeri yenna ne babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali; era, laba, kwawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri: Yuda n'atwalibwa e Babulooni nga basibe olw'okusobya kwabwe. 13C1H009.002 Now the first inhabitants that dwelt in their possessions in their cities were, the Israelites, the priests, Levites, and the Nethinims. %%% Awo abantu abaasooka okubeera mu bifo byabwe bye baalya mu bibuga byabwe be bano, Isiraeri, bakabona, Abaleevi, n'Abanesinimu. 13C1H009.003 And in Jerusalem dwelt of the children of Judah, and of the children of Benjamin, and of the children of Ephraim, and Manasseh; %%% Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu ku baana ba Yuda, ne ku baana ba Benyamini, ne ku baana ba Efulayimu ne Manase; 13C1H009.004 Uthai the son of Ammihud, the son of Omri, the son of Imri, the son of Bani, of the children of Pharez the son of Judah. %%% Usayi mutabani wa Ammikudi, mutabani wa Omuli, mutabani wa Imuli, mutabani wa Bani, ow'oku baana ba Pereezi mutabani wa Yuda. 13C1H009.005 And of the Shilonites; Asaiah the firstborn, and his sons. %%% Ne ku Basiiro; Asaya omubereberye, ne batabani be. 13C1H009.006 And of the sons of Zerah; Jeuel, and their brethren, six hundred and ninety. %%% Ne ku batabani ba Zeera; Yeweri, ne baganda baabwe, lukaaga mu kyenda. 13C1H009.007 And of the sons of Benjamin; Sallu the son of Meshullam, the son of Hodaviah, the son of Hasenuah, %%% Ne ku batabani ba Benyamini; Sallu mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Kodaviya, mutabani wa Kassenuwa; 13C1H009.008 And Ibneiah the son of Jeroham, and Elah the son of Uzzi, the son of Michri, and Meshullam the son of Shephathiah, the son of Reuel, the son of Ibnijah; %%% ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, mutabani wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, mutabani wa Leweri, mutabani wa Ibuniya; 13C1H009.009 And their brethren, according to their generations, nine hundred and fifty and six. All these men were chief of the fathers in the house of their fathers. %%% ne baganda baabwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, lwenda mu ataano mu mukaaga. Abasajja abo bonna nga mitwe gya nnyumba za bajjajjaabwe, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali. 13C1H009.010 And of the priests; Jedaiah, and Jehoiarib, and Jachin, %%% Ne ku bakabona; Yedaya, ne Yekoyalibu, Yakini; 13C1H009.011 And Azariah the son of Hilkiah, the son of Meshullam, the son of Zadok, the son of Meraioth, the son of Ahitub, the ruler of the house of God; %%% ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, mutabani wa Mesulamu, mutabani wa Zadooki, mutabani wa Merayoosi, mutabani wa Akituubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda; 13C1H009.012 And Adaiah the son of Jeroham, the son of Pashur, the son of Malchijah, and Maasiai the son of Adiel, the son of Jahzerah, the son of Meshullam, the son of Meshillemith, the son of Immer; %%% ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Pasukuli, mutabani wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, mutabani wa Yazera, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Mesiremisi, mutabani wa Immeri; 13C1H009.013 And their brethren, heads of the house of their fathers, a thousand and seven hundred and threescore; very able men for the work of the service of the house of God. %%% ne baganda baabwe emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, lukumi mu lusanvu mu nkaaga; abasajja abaayinziza ddala omulimu ogw'okuweereza mu nnyumba ya Katonda. 13C1H009.014 And of the Levites; Shemaiah the son of Hasshub, the son of Azrikam, the son of Hashabiah, of the sons of Merari; %%% Ne ku Baleevi; Semaaya mutabani wa Kassubu, mutabani wa Azulikamu, mutabani wa Kasabiya ow'oku batabani ba Merali: 13C1H009.015 And Bakbakkar, Heresh, and Galal, and Mattaniah the son of Micah, the son of Zichri, the son of Asaph; %%% ne Bakubakkali, Keresi, ne Galali, ne Mattaniya mutabani wa Mikka, mutabani wa Zikuli, mutabani wa Asafu; 13C1H009.016 And Obadiah the son of Shemaiah, the son of Galal, the son of Jeduthun, and Berechiah the son of Asa, the son of Elkanah, that dwelt in the villages of the Netophathites. %%% ne Obadiya mutabani wa Semaaya, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedusuni, ne Berekiya mutabani wa Asa, mutabani wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby'Abanetofa. 13C1H009.017 And the porters were, Shallum, and Akkub, and Talmon, and Ahiman, and their brethren: Shallum was the chief; %%% N'abaggazi; Sallumu, ne Akkubu, ne Talumoni, ne Akimani, ne baganda baabwe: Sallumu ye yali omukulu; 13C1H009.018 Who hitherto waited in the king's gate eastward: they were porters in the companies of the children of Levi. %%% edda abaalindiriranga mu mulyango gwa kabaka ebuvanjuba; be baali abaggazi ab'olusiisira lw'abaana ba Leevi. 13C1H009.019 And Shallum the son of Kore, the son of Ebiasaph, the son of Korah, and his brethren, of the house of his father, the Korahites, were over the work of the service, keepers of the gates of the tabernacle: and their fathers, being over the host of the LORD, were keepers of the entry. %%% Ne Sallumu mutabani wa Koole, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola, ne baganda be ab'omu nnyumba ya kitaawe, Abakoola, be baalabirira omulimu ogw'okuweereza, abaggazi b'enzigi z'eweema: ne bajjajjaabwe be baabanga abakulu b'olusiisira lwa Mukama, abaggazi b'omulyango; 13C1H009.020 And Phinehas the son of Eleazar was the ruler over them in time past, and the LORD was with him. %%% ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yabanga omukulu waabwe mu biro eby'edda, era Mukama yabanga naye. 13C1H009.021 And Zechariah the son of Meshelemiah was porter of the door of the tabernacle of the congregation. %%% Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ow'oku luggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 13C1H009.022 All these which were chosen to be porters in the gates were two hundred and twelve. These were reckoned by their genealogy in their villages, whom David and Samuel the seer did ordain in their set office. %%% Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi ku nzigi baali ebikumi bibiri mu kkumi mu babiri. Abo baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu byalo byabwe, Dawudi ne Samwiri nnabbi be baayawulira omulimu gwabwe ogwateekebwawo. 13C1H009.023 So they and their children had the oversight of the gates of the house of the LORD, namely, the house of the tabernacle, by wards. %%% Awo bo n'abaana baabwe ne baba n'omulimu ogw'okulabirira enzigi z'ennyumba ya Mukama, ennyumba ey'eweema, mu bisanja. 13C1H009.024 In four quarters were the porters, toward the east, west, north, and south. %%% Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obukiika obwa ddyo. 13C1H009.025 And their brethren, which were in their villages, were to come after seven days from time to time with them. %%% Ne baganda baabwe mu byalo byabwe baali ba kujjanga nga wayiseewo ennaku musanvu buli kiseera okubeera awamu nabo: 13C1H009.026 For these Levites, the four chief porters, were in their set office, and were over the chambers and treasuries of the house of God. %%% kubanga abaggazi abana abaasinga obukulu, Abaleevi, baalina omulimu ogwateekebwawo, nga be bakulu b'enju era ab'amawanika mu nnyumba ya Katonda. 13C1H009.027 And they lodged round about the house of God, because the charge was upon them, and the opening thereof every morning pertained to them. %%% Ne basula okwetooloola ennyumba ya Katonda, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okugikuuma, n'okugiggulawo buli nkya nga gwe mulimu gwabwe. 13C1H009.028 And certain of them had the charge of the ministering vessels, that they should bring them in and out by tale. %%% Era abamu ku bo ne bakwasibwa ebintu ebiweereza okubikuuma; kubanga bwe byayingizibwanga ne bibalibwanga, era bwe byafulumizibwanga ne bibalibwanga. 13C1H009.029 Some of them also were appointed to oversee the vessels, and all the instruments of the sanctuary, and the fine flour, and the wine, and the oil, and the frankincense, and the spices. %%% Era abamu ku bo ne balagirwa okulabirira ebikoza emirimu n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, n'obutta obulungi, n'omwenge, n'amafuta, n'omugavu, n'eby'akaloosa. 13C1H009.030 And some of the sons of the priests made the ointment of the spices. %%% Era abamu ku baana ba bakabona ne balongoosanga kalifuwa ow'eby'akaloosa. 13C1H009.031 And Mattithiah, one of the Levites, who was the firstborn of Shallum the Korahite, had the set office over the things that were made in the pans. %%% Ne Mattisiya, omu ku Baleevi, omubereberye wa Sallumu Omukoola, ye yalina omulimu ogwateekebwawo ogw'okulabirira ebyo ebyasiikirwanga mu mmumbiro. 13C1H009.032 And other of their brethren, of the sons of the Kohathites, were over the shewbread, to prepare it every sabbath. %%% Era abamu ku baganda baabwe ku baana ba b'Abakokasi be baalabiriranga emigaati egy'okulaga, okugirongoosanga buli ssabbiiti. 13C1H009.033 And these are the singers, chief of the fathers of the Levites, who remaining in the chambers were free: for they were employed in that work day and night. %%% Era bano be bayimbi, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, abaasula mu nju era abaasonyiyibwa okuweereza okulala: kubanga baakolanga omulimu gwabwe emisana n'ekiro. 13C1H009.034 These chief fathers of the Levites were chief throughout their generations; these dwelt at Jerusalem. %%% Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, okubuna emirembe gyabwe, abasajja abasinga obukulu: abo baabeeranga e Yerusaalemi. 13C1H009.035 And in Gibeon dwelt the father of Gibeon, Jehiel, whose wife's name was Maachah, %%% Ne kitaawe wa Gibyoni n'abeeranga mu Gibyoni, Yeyeeri, mukazi we erinnya lye Maaka: 13C1H009.036 And his firstborn son Abdon, then Zur, and Kish, and Baal, and Ner, and Nadab, %%% ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Neeri, ne Nadabu; 13C1H009.037 And Gedor, and Ahio, and Zechariah, and Mikloth. %%% ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekkaliya, ne Mikuloosi. 13C1H009.038 And Mikloth begat Shimeam. And they also dwelt with their brethren at Jerusalem, over against their brethren. %%% Mikuloosi n'azaala Simeyamu. Era nabo ne babeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, nga boolekera baganda baabwe. 13C1H009.039 And Ner begat Kish; and Kish begat Saul; and Saul begat Jonathan, and Malchishua, and Abinadab, and Eshbaal. %%% Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali. 13C1H009.040 And the son of Jonathan was Meribbaal: and Meribbaal begat Micah. %%% Ne Meribubaali ye yali mutabani wa Yonamani; Meribubaali n'azaala Mikka. 13C1H009.041 And the sons of Micah were, Pithon, and Melech, and Tahrea, and Ahaz. %%% Ne batabani ba Mikka; Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi. 13C1H009.042 And Ahaz begat Jarah; and Jarah begat Alemeth, and Azmaveth, and Zimri; and Zimri begat Moza; %%% Akazi n'azaala Yala; Yala n'azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza; 13C1H009.043 And Moza begat Binea; and Rephaiah his son, Eleasah his son, Azel his son. %%% Moza n'azaala Bineya; ne Lefaya nutabani we, Ereyaasa mutabani we, Azeri mutabani we; 13C1H009.044 And Azel had six sons, whose names are these, Azrikam, Bocheru, and Ishmael, and Sheariah, and Obadiah, and Hanan: these were the sons of Azel. %%% Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amanya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani: abo be baali batabani ba Azeri. 13C1H010.001 Now the Philistines fought against Israel; and the men of Israel fled from before the Philistines, and fell down slain in mount Gilboa. %%% Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka Abafirisuuti ne bagwa nga battiddwa ku lusozi Girubowa. 13C1H010.002 And the Philistines followed hard after Saul, and after his sons; and the Philistines slew Jonathan, and Abinadab, and Malchishua, the sons of Saul. %%% Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu, ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo. 13C1H010.003 And the battle went sore against Saul, and the archers hit him, and he was wounded of the archers. %%% Awo olutalo Sawulo ne lumugendera bubi, abalasi ne bamutuukako; neyeeraliikirira olw'abalasi. 13C1H010.004 Then said Saul to his armourbearer, Draw thy sword, and thrust me through therewith; lest these uncircumcised come and abuse me. But his armourbearer would not; for he was sore afraid. So Saul took a sword, and fell upon it. %%% Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako. 13C1H010.005 And when his armourbearer saw that Saul was dead, he fell likewise on the sword, and died. %%% Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afa. 13C1H010.006 So Saul died, and his three sons, and all his house died together. %%% Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu. 13C1H010.007 And when all the men of Israel that were in the valley saw that they fled, and that Saul and his sons were dead, then they forsook their cities, and fled: and the Philistines came and dwelt in them. %%% Awo abasajja bonna aba Isiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba nga badduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. 13C1H010.008 And it came to pass on the morrow, when the Philistines came to strip the slain, that they found Saul and his sons fallen in mount Gilboa. %%% Awo olwatuuka olw'okubiri, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bagudde ku lusozi Girubowa. 13C1H010.009 And when they had stripped him, they took his head, and his armour, and sent into the land of the Philistines round about, to carry tidings unto their idols, and to the people. %%% Ne bamwambula, ne baddira omutwe gwe n'ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi y'Abafirisuuti enjuyi zonna, okutwala ebigambo ebyo eri ebifaananyi byabwe, n'eri abantu. 13C1H010.010 And they put his armour in the house of their gods, and fastened his head in the temple of Dagon. %%% Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya bakatonda baabwe, ne basimba omutwe gwe mu ssabo lya Dagoni. 13C1H010.011 And when all Jabeshgilead heard all that the Philistines had done to Saul, %%% Awo ab'e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye bakoze Sawulo, 13C1H010.012 They arose, all the valiant men, and took away the body of Saul, and the bodies of his sons, and brought them to Jabesh, and buried their bones under the oak in Jabesh, and fasted seven days. %%% abazira bonna ne bagolokoka ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gaabwe wansi w'omwera e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu. 13C1H010.013 So Saul died for his transgression which he committed against the LORD, even against the word of the LORD, which he kept not, and also for asking counsel of one that had a familiar spirit, to enquire of it; %%% Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; era kubanga yalagulwa eri eyaliko omuzimu, okumubuulizaamu, 13C1H010.014 And enquired not of the LORD: therefore he slew him, and turned the kingdom unto David the son of Jesse. %%% n'atalagulwa eri Mukama: kyeyava amutta, n'akyusa obwakabaka eri Dawudi mutabani wa Yese. 13C1H011.001 Then all Israel gathered themselves to David unto Hebron, saying, Behold, we are thy bone and thy flesh. %%% Awo Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, nga boogera nti Laba, tuli ba ku magumba go na mubiri gwo. 13C1H011.002 And moreover in time past, even when Saul was king, thou wast he that leddest out and broughtest in Israel: and the LORD thy God said unto thee, Thou shalt feed my people Israel, and thou shalt be ruler over my people Israel. %%% Mu biro eby'edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wafulumyanga n'oyingiza Isiraeri: Mukama Katonda wo n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba omulangira w'abantu bange Isiraeri. 13C1H011.003 Therefore came all the elders of Israel to the king to Hebron; and David made a covenant with them in Hebron before the LORD; and they anointed David king over Israel, according to the word of the LORD by Samuel. %%% Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n'alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Samwiri. 13C1H011.004 And David and all Israel went to Jerusalem, which is Jebus; where the Jebusites were, the inhabitants of the land. %%% Awo Dawudi ne Isiraeri yenna ne bagenda e Yerusaalemi (ye Yebusi;) era Abayebusi, be b'omu nsi eyo, baali eyo. 13C1H011.005 And the inhabitants of Jebus said to David, Thou shalt not come hither. Nevertheless David took the castle of Zion, which is the city of David. %%% Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti Tojja kuyingira muno. Naye Dawudi n'amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi. 13C1H011.006 And David said, Whosoever smiteth the Jebusites first shall be chief and captain. So Joab the son of Zeruiah went first up, and was chief. %%% Dawudi n'ayogera nti Buli anaasooka okugoba Abayebusi ye aliba omukulu era omwami. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'asooka okulinnya, n'afuuka mukulu. 13C1H011.007 And David dwelt in the castle; therefore they called it the city of David. %%% Dawudi n'abeera mu kigo; kyebaava bakiyita ekibuga kya Dawudi. 13C1H011.008 And he built the city round about, even from Millo round about: and Joab repaired the rest of the city. %%% N'azimba ekibuga enjuyi zonna, okuva e Miiro n'enjuyi zonna: Yowaabu n'addaabiriza ebitundu by'ekibuga ebyasigalawo. 13C1H011.009 So David waxed greater and greater: for the LORD of hosts was with him. %%% Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama ow'eggye ng'ali naye. 13C1H011.010 These also are the chief of the mighty men whom David had, who strengthened themselves with him in his kingdom, and with all Israel, to make him king, according to the word of the LORD concerning Israel. %%% Era bano be baasinga obukulu mu bazira Dawudi be yalina, abeeraga nga ba maanyi eri ye mu bwakabaka bwe wamu ne Isiraeri yenna, okumufuula kabaka, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ekya Isiraeri. 13C1H011.011 And this is the number of the mighty men whom David had; Jashobeam, an Hachmonite, the chief of the captains: he lifted up his spear against three hundred slain by him at one time. %%% Era guno gwe muwendo gw'ab'amaanyi Dawudi be yalina: Yasobeyamu, omwana w'Omukakumoni, omukulu w'abo amakumi asatu: yayimusa effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta omulundi gumu. 13C1H011.012 And after him was Eleazar the son of Dodo, the Ahohite, who was one of the three mighties. %%% N'oluvannyuma lw'oyo Eriyazaali mutabani wa Dodo, Omwakowa, ow'oku basajja ab'amaanyi abasatu. 13C1H011.013 He was with David at Pasdammim, and there the Philistines were gathered together to battle, where was a parcel of ground full of barley; and the people fled from before the Philistines. %%% Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammiimu, era Abafirisuuti ne bakuŋŋaanira eyo okulwana, awaali omusiri ogwa sayiri; abantu ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti. 13C1H011.014 And they set themselves in the midst of that parcel, and delivered it, and slew the Philistines; and the LORD saved them by a great deliverance. %%% Ne bayimirira wakati mu nnimiro ne bagulwanirira, ne batta Abafirisuuti; Mukama n'abalokola n'okuwangula okukulu. 13C1H011.015 Now three of the thirty captains went down to the rock to David, into the cave of Adullam; and the host of the Philistines encamped in the valley of Rephaim. %%% Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta eri olwazi eri Dawudi, mu mpuku ya Adulamu; eggye ly'Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 13C1H011.016 And David was then in the hold, and the Philistines' garrison was then at Bethlehem. %%% Era Dawudi yali ali ku kiddukiro mu biro ebyo, n'Abafirisuuti ab'omu kigo nga bali mu Besirekemu. 13C1H011.017 And David longed, and said, Oh that one would give me drink of the water of the well of Bethlehem, that is at the gate! %%% Dawudi ne yeegomba n'ayogera nti Singa wabaddewo anannywesa amazzi ag'omu luzzi olw'e Besirekemu, oluliraanye omulyango! 13C1H011.018 And the three brake through the host of the Philistines, and drew water out of the well of Bethlehem, that was by the gate, and took it, and brought it to David: but David would not drink of it, but poured it out to the LORD, %%% Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu olwaliraana omulyango, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye Dawudi n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama, n'ayogera nti 13C1H011.019 And said, My God forbid it me, that I should do this thing: shall I drink the blood of these men that have put their lives in jeopardy? for with the jeopardy of their lives they brought it. Therefore he would not drink it. These things did these three mightiest. %%% Katonda wange akiddize eri gye ndi nze okukola bwe ntyo: nnywe omusaayi gw'abasajja bano abavudde mu bulamu bwabwe? kubanga bagaleese nga bavudde mu bulamu bwabwe. Kyeyava agaana okuganywa. Ebyo abasajja abo ab'amaanyi abasatu bye baakola. 13C1H011.020 And Abishai the brother of Joab, he was chief of the three: for lifting up his spear against three hundred, he slew them, and had a name among the three. %%% Era Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu kubanga yayimusa effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta, n'ayatiikirira ku basatu. 13C1H011.021 Of the three, he was more honourable than the two; for he was their captain: howbeit he attained not to the first three. %%% Ku abo abasatu yali n'ekitiibwa okusinga ababiri, n'afuuka omukulu waabwe: naye n'atenkana abasatu ab'olubereberye. 13C1H011.022 Benaiah the son of Jehoiada, the son of a valiant man of Kabzeel, who had done many acts; he slew two lionlike men of Moab: also he went down and slew a lion in a pit in a snowy day. %%% Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omuzira ow'e Kabuzeeri, eyali akoze eby'amaanyi, oyo n'atta batabani ba Alyeri, owa Mowaabu bombi: era n'aserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira. 13C1H011.023 And he slew an Egyptian, a man of great stature, five cubits high; and in the Egyptian's hand was a spear like a weaver's beam; and he went down to him with a staff, and plucked the spear out of the Egyptian's hand, and slew him with his own spear. %%% Era n’atta Omumisiri, omusajja omuwanvu ennyo, obuwanvu bwe emikono etaano; era Omumisiri yali akutte mu ngalo ze effumu eryali ng'omuti ogulukirwako engoye; yaserengeta gy'ali ag'alina omuggo, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri, n'amutta n'effumu lye ye. 13C1H011.024 These things did Benaiah the son of Jehoiada, and had the name among the three mighties. %%% Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, n'ayatiikirira ku basajja abo ab'amaanyi abasatu. 13C1H011.025 Behold, he was honourable among the thirty, but attained not to the first three: and David set him over his guard. %%% Laba, yali n'ekitiibwa okusinga abo amakumi asatu, naye n'atenkana abasatu ab'olubereberye: Dawudi n'amufuula omukulu w'abambowa be. 13C1H011.026 Also the valiant men of the armies were, Asahel the brother of Joab, Elhanan the son of Dodo of Bethlehem, %%% Era abasajja ab'amaanyi ab'omu ggye; Aaskeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow'e Besirekemu; 13C1H011.027 Shammoth the Harorite, Helez the Pelonite, %%% Sammosi Omukalooli, Kerezi Omuperoni; 13C1H011.028 Ira the son of Ikkesh the Tekoite, Abiezer the Antothite, %%% Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, Abiyezeeri Omwanasosi; 13C1H011.029 Sibbecai the Hushathite, Ilai the Ahohite, %%% Sibbekayi Omukusasi, Irayi Omwakowa; 13C1H011.030 Maharai the Netophathite, Heled the son of Baanah the Netophathite, %%% Makalayi Omunetofa; Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa; 13C1H011.031 Ithai the son of Ribai of Gibeah, that pertained to the children of Benjamin, Benaiah the Pirathonite, %%% Isayi mutabani wa Libayi owe Gibeya ow'oku baana ba Benyamini, Benaya Omupirasoni; 13C1H011.032 Hurai of the brooks of Gaash, Abiel the Arbathite, %%% Kulayi ow'oku bugga obw'e Gaasi, Abyeri Omwaluba; 13C1H011.033 Azmaveth the Baharumite, Eliahba the Shaalbonite, %%% Azimavesi Omubakalumi, Eriyaba Omusaaluboni: 13C1H011.034 The sons of Hashem the Gizonite, Jonathan the son of Shage the Hararite, %%% batabani ba Kasemu Omugizoni, Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali; 13C1H011.035 Ahiam the son of Sacar the Hararite, Eliphal the son of Ur, %%% Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, ,Erifali mutabani wa Uli; 13C1H011.036 Hepher the Mecherathite, Ahijah the Pelonite, %%% Keferi Omumekera, Akiya Omuperoni; 13C1H011.037 Hezro the Carmelite, Naarai the son of Ezbai, %%% Kezulo Omukalumeri, Naalayi mutabani wa Ezubayi; 13C1H011.038 Joel the brother of Nathan, Mibhar the son of Haggeri, %%% Yoweeri muganda wa Nasani, Mibukali mutabani wa Kaguli; 13C1H011.039 Zelek the Ammonite, Naharai the Berothite, the armourbearer of Joab the son of Zeruiah, %%% Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, eyatwaliranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ebyokulwanyisa bye; 13C1H011.040 Ira the Ithrite, Gareb the Ithrite, %%% Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli; 13C1H011.041 Uriah the Hittite, Zabad the son of Ahlai, %%% Uliya Omukiiti, Zabadi mutabani wa Akulayi; 13C1H011.042 Adina the son of Shiza the Reubenite, a captain of the Reubenites, and thirty with him, %%% Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, omwami ow'omu Balewubeeni, n'amakumi asatu wamu naye; 13C1H011.043 Hanan the son of Maachah, and Joshaphat the Mithnite, %%% Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafati Omumisuni; 13C1H011.044 Uzzia the Ashterathite, Shama and Jehiel the sons of Hothan the Aroerite, %%% Uzziya Omwasutaloosi, Sama ne Yeyeeri batabani ba Kosamu Omwaloweri; 13C1H011.045 Jediael the son of Shimri, and Joha his brother, the Tizite, %%% Yediyayeri mutabani wa Simuli, ne Yoka muganda we, Omutiizi; 13C1H011.046 Eliel the Mahavite, and Jeribai, and Joshaviah, the sons of Elnaam, and Ithmah the Moabite, %%% Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi, ne Yosaviya, batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu; 13C1H011.047 Eliel, and Obed, and Jasiel the Mesobaite. %%% Eryeri ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba. 13C1H012.001 Now these are they that came to David to Ziklag, while he yet kept himself close because of Saul the son of Kish: and they were among the mighty men, helpers of the war. %%% Era bano be bajja eri Dawudi e Zikulagi ng'akyekwese olwa Sawulo, mutabani wa Kiisi: era baabanga mu basajja ab'amaanyi abaamubeeranga okulwana. 13C1H012.002 They were armed with bows, and could use both the right hand and the left in hurling stones and shooting arrows out of a bow, even of Saul's brethren of Benjamin. %%% Baakwatanga emitego era baayinza okuvuumuula amayinja n'okulasa obusaale ku mutego n'omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono; baali ba ku baganda ba Sawulo, ba Benyamini. 13C1H012.003 The chief was Ahiezer, then Joash, the sons of Shemaah the Gibeathite; and Jeziel, and Pelet, the sons of Azmaveth; and Berachah, and Jehu the Antothite, %%% Akiyezeri ye yali omukulu, Yowaasi n'amuddirira, batabani ba Semaa Omugibeya; ne Yeziyeri ne Pereti, batabani ba Azumavesi; ne Beraka, ne Yeeku Omwanasosi; 13C1H012.004 And Ismaiah the Gibeonite, a mighty man among the thirty, and over the thirty; and Jeremiah, and Jahaziel, and Johanan, and Josabad the Gederathite, %%% ne Isumaya Omugibyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo amakumi asatu, era omukulu w'amakumi asatu; Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanani, ne Yozabadi Omugederi; 13C1H012.005 Eluzai, and Jerimoth, and Bealiah, and Shemariah, and Shephatiah the Haruphite, %%% Eruzayi ne Yerimosi, ne Beyaliya ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu; 13C1H012.006 Elkanah, and Jesiah, and Azareel, and Joezer, and Jashobeam, the Korhites, %%% Erukaana ne Issiya ne Azaleri ne Yowezeeri ne Yasobeyamu, Abakoola; 13C1H012.007 And Joelah, and Zebadiah, the sons of Jeroham of Gedor. %%% ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba Yerokamu ow'e Gedoli. 13C1H012.008 And of the Gadites there separated themselves unto David into the hold to the wilderness men of might, and men of war fit for the battle, that could handle shield and buckler, whose faces were like the faces of lions, and were as swift as the roes upon the mountains; %%% Ne ku Bagaadi ne kweyawula abaagoberera Dawudi ku kiddukiro mu ddungu abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayigirizibwa okulwana, abaayinza okukwata engabo n'effumu; amaaso gaabwe nga gafaanana amaaso g'empologoma, era ab'embiro ng'empeewo eziri ku nsozi; 13C1H012.009 Ezer the first, Obadiah the second, Eliab the third, %%% Ezeri omukulu, Obadiya ow'okubiri, Eriyaabu ow'okusatu; 13C1H012.010 Mishmannah the fourth, Jeremiah the fifth, %%% Misumanna ow'okuna, Yeremiya ow'okutaano; 13C1H012.011 Attai the sixth, Eliel the seventh, %%% Attayi ow'omukaaga, Eriyeri ow'omusanvu; 13C1H012.012 Johanan the eighth, Elzabad the ninth, %%% Yokanani ow'omunaana, Eruzabadi ow'omwenda; 13C1H012.013 Jeremiah the tenth, Machbanai the eleventh. %%% Yeremiya ow'ekkumi, Makubannayi ow'ekkumi n'omu. 13C1H012.014 These were of the sons of Gad, captains of the host: one of the least was over an hundred, and the greatest over a thousand. %%% Abo ab'oku baana ba Gaadi be baali abakulu b'eggye; omuto nga yenkana ekikumi, n'omukulu nga yenkana olukumi. 13C1H012.015 These are they that went over Jordan in the first month, when it had overflown all his banks; and they put to flight all them of the valleys, both toward the east, and toward the west. %%% Abo be baasomoka Yoludaani mu mwezi ogw'olubereberye, nga gumaze okwanjaala ku ttale lyagwo lyonna; ne bagoba abo bonna ab'omu biwonvu, ebuvanjuba era n'ebugwanjuba. 13C1H012.016 And there came of the children of Benjamin and Judah to the hold unto David. %%% Awo ku baana ba Benyamini ne Yuda ne kujja mu kiddukiro eri Dawudi. 13C1H012.017 And David went out to meet them, and answered and said unto them, If ye be come peaceably unto me to help me, mine heart shall be knit unto you: but if ye be come to betray me to mine enemies, seeing there is no wrong in mine hands, the God of our fathers look thereon, and rebuke it. %%% Dawudi n'afuluma okubasisinkana, n'addamu n'abagamba nti Oba nga muzze gye ndi mirembe okunnyamba, omutima gwange guneegatta nammwe: naye oba nga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, nga temuli kabi nu mikono gyange, Katonda wa bajjajjaffe akitunuulire, akinenye: 13C1H012.018 Then the spirit came upon Amasai, who was chief of the captains, and he said, Thine are we, David, and on thy side, thou son of Jesse: peace, peace be unto thee, and peace be to thine helpers; for thy God helpeth thee. Then David received them, and made them captains of the band. %%% Awo omwoyo ne gulyoka gujja ku Amasayi, eyali omukulu w'abo amakumi asatu, n'ayogera nti Tuli babo, Dawudi, era tuli ku lulwo, gwe mutabani wa Yese: emirembe, emirembe gibe gy'oli, era emirembe gibe eri abo abakuyamba; kubanga Katonda wo akuyamba. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula abaami b'ekitongole. 13C1H012.019 And there fell some of Manasseh to David, when he came with the Philistines against Saul to battle: but they helped them not: for the lords of the Philistines upon advisement sent him away, saying, He will fall to his master Saul to the jeopardy of our heads. %%% Era ne ku Manase ne kusenguka abamu ne basenga Dawudi, bwe yajja awamu n'Abafirisuuti okutabaala Sawulo, naye ne batabayamba: kubanga abakungu b'Abafirisuuti bwe baamala okuteesa ne bamugoba, nga boogera nti Anaasenga mukama we Sawulo n'aleeta akabi ku mitwe gyaffe. 13C1H012.020 As he went to Ziklag, there fell to him of Manasseh, Adnah, and Jozabad, and Jediael, and Michael, and Jozabad, and Elihu, and Zilthai, captains of the thousands that were of Manasseh. %%% Bwe yali ng'agenda e Zikulagi, ne kumusenga ku Manase Aduna ne Yozabadi ne Yediyayaeri ne Mikayiri ne Yozabadi ne Eriku ne Zirresayi, abaami b'enkumi aba Manase. 13C1H012.021 And they helped David against the band of the rovers: for they were all mighty men of valour, and were captains in the host. %%% Ne bayamba Dawudi okulwana n'ekibiina eky'abakwekwesi: kubanga bonna baali basajja ba maanyi abazira, era nga baami ab'omu ggye. 13C1H012.022 For at that time day by day there came to David to help him, until it was a great host, like the host of God. %%% Kubanga buli lunaku ne bajja eri Dawudi okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye ddene, erifaanana eggye lya Katonda. 13C1H012.023 And these are the numbers of the bands that were ready armed to the war, and came to David to Hebron, to turn the kingdom of Saul to him, according to the word of the LORD. %%% Era gino gye miwendo gy'emitwe gy'abo abaakwata ebyokulwanyisa okulwana, abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okukyusa obwakabaka bwa Sawulo eri ye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. 13C1H012.024 The children of Judah that bare shield and spear were six thousand and eight hundred, ready armed to the war. %%% Abaana ba Yuda abaakwatanga engabo n'effumu baali kakaaga mu lunaana abaakwata ebyokulwanyisa okulwana. 13C1H012.025 Of the children of Simeon, mighty men of valour for the war, seven thousand and one hundred. %%% Ku baana ba Simyoni abasajja ab'amaanyi abazira okulwana, kasanvu mu kikumi. 13C1H012.026 Of the children of Levi four thousand and six hundred. %%% Ne ku baana ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga. 13C1H012.027 And Jehoiada was the leader of the Aaronites, and with him were three thousand and seven hundred; %%% Era Yekoyaada ye yali omukulembezi w'ennyumba ya Alooni, era ne waba wamu naye enkumi ssatu mu lusanvu; 13C1H012.028 And Zadok, a young man mighty of valour, and of his father's house twenty and two captains. %%% ne Zadooki, omulenzi ow'amaanyi omuzira, ne ku nnyumba ya kitaawe, abaami amakumi abiri mu babiri. 13C1H012.029 And of the children of Benjamin, the kindred of Saul, three thousand: for hitherto the greatest part of them had kept the ward of the house of Saul. %%% Ne ku baana ba Benyamini, baganda ba Sawulo, enkumi ssatu: kubanga okutuusa ku biro ebyo abasinga obungi baali banyweredde ku nnyumba ya Sawulo. 13C1H012.030 And of the children of Ephraim twenty thousand and eight hundred, mighty men of valour, famous throughout the house of their fathers. %%% Ne ku baana ba Efulayimu, obukumi bubiri mu lunaana, abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayatiikirira mu nnyumba za bajjajjaabwe. 13C1H012.031 And of the half tribe of Manasseh eighteen thousand, which were expressed by name, to come and make David king. %%% Ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, kakumi mu kanaana, abaayatulwa amanaya gaabwe okujja okufuula Dawudi kabaka. 13C1H012.032 And of the children of Issachar, which were men that had understanding of the times, to know what Israel ought to do; the heads of them were two hundred; and all their brethren were at their commandment. %%% Ne ku baana ba Isakaali, abasajja abaategeera ebiro bwe byali, okumanya ebigwanidde Isiraeri okukola; emitwe gyabwe gyali ebikumi bibiri; ne baganda baabwe bonna baagonderanga okulagira kwabwe. 13C1H012.033 Of Zebulun, such as went forth to battle, expert in war, with all instruments of war, fifty thousand, which could keep rank: they were not of double heart. %%% Ku Zebbulooni abo abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, n'ebyokulwanyisa eby'engeri zonna, obukumi butaano; era abaayinza okusimba (ennyiriri,) so abataali ba mitima ebiri. 13C1H012.034 And of Naphtali a thousand captains, and with them with shield and spear thirty and seven thousand. %%% Ne ku Nafutaali, abaami lukumi, era wamu n'abo abalina engabo n'effumu, obukumi busatu mu kasanvu. 13C1H012.035 And of the Danites expert in war twenty and eight thousand and six hundred. %%% Ne ku Badani abaayinza okusimba ennyiriri, obukumi bubiri mu kanaana mu lukaaga. 13C1H012.036 And of Asher, such as went forth to battle, expert in war, forty thousand. %%% Ne ku Aseri, abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, obukumi buna. 13C1H012.037 And on the other side of Jordan, of the Reubenites, and the Gadites, and of the half tribe of Manasseh, with all manner of instruments of war for the battle, an hundred and twenty thousand. %%% N'emitala wa Yoludaani, ku Balewubeeni n'Abagaadi ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, nga balina ebyokulwaayisa eby'engeri zonna olw'olutalo, kasiriivu mu obukumi bubiri. 13C1H012.038 All these men of war, that could keep rank, came with a perfect heart to Hebron, to make David king over all Israel: and all the rest also of Israel were of one heart to make David king. %%% Abo bonna, abasajja abalwanyi, abaayinza okusimba ennyiriri, ne bajja n'omutima ogwatuukirira e Kebbulooni, okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yenna: era n'Abaisiraeri abalala bonna baalina omutima gumu okufuula Dawudi kabaka. 13C1H012.039 And there they were with David three days, eating and drinking: for their brethren had prepared for them. %%% Awo ne bamalayo wamu ne Dawudi ennaku ssatu nga balya era nga banywa: kubanga baganda baabwe baali babategekedde. 13C1H012.040 Moreover they that were nigh them, even unto Issachar and Zebulun and Naphtali, brought bread on asses, and on camels, and on mules, and on oxen, and meat, meal, cakes of figs, and bunches of raisins, and wine, and oil, and oxen, and sheep abundantly: for there was joy in Israel. %%% Era nate abo abaabali okumpi, okutuuka ku Isakaali ne Zebbulooni ne Nafutaali, ne baleeta emigaati ku ndogoyi ne ku ŋŋamira ne ku nnyumba ne ku nte, ebyokulya eby'obutta; n'ebitole eby'ettiini n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu n'omwenge n'amafuta n'ente n'endiga nnyingi: kubanga mu Isiraeri nga mulimu essanyu. 13C1H013.001 And David consulted with the captains of thousands and hundreds, and with every leader. %%% Awo Dawudi n'ateesa n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, buli mukulu. 13C1H013.002 And David said unto all the congregation of Israel, If it seem good unto you, and that it be of the LORD our God, let us send abroad unto our brethren every where, that are left in all the land of Israel, and with them also to the priests and Levites which are in their cities and suburbs, that they may gather themselves unto us: %%% Dawudi n'agamba ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri nti Oba nga musiima bwe mutyo, era oba nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutume wonna wonna eri baganda baffe abasigaddewo mu nsi yonna eya Isiraeri, bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ebiriko ebyalo, bakuŋŋaanire gye tuli; 13C1H013.003 And let us bring again the ark of our God to us: for we enquired not at it in the days of Saul. %%% tukomyewo gye tuli essanduuko ya Katonda waffe: kubanga tetwagyebuuzangako kigambo mu mirembe gya Sawulo. 13C1H013.004 And all the congregation said that they would do so: for the thing was right in the eyes of all the people. %%% Ekkuŋŋaaniro lyonna ne boogera nga banaakola bwe batyo: kubanga ekigambo kyali kirungi mu maaso g'abantu bonna. 13C1H013.005 So David gathered all Israel together, from Shihor of Egypt even unto the entering of Hemath, to bring the ark of God from Kirjathjearim. %%% Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Sikoli akagga ak'e Misiri okutuuka awayingirirwa e Kamasi, okuleeta essanduuko ya Katonda nga bagiggya e Kiriyasuyalimu. 13C1H013.006 And David went up, and all Israel, to Baalah, that is, to Kirjathjearim, which belonged to Judah, to bring up thence the ark of God the LORD, that dwelleth between the cherubims, whose name is called on it. %%% Dawudi n'ayambuka ne Isiraeri yenna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda, okukimayo essanduuko ya Katonda, Mukama atuula ku bakerubi, ayitibwa Erinnya lye nnyini. 13C1H013.007 And they carried the ark of God in a new cart out of the house of Abinadab: and Uzza and Ahio drave the cart. %%% Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu; Uzza ne Akiyo ne bagoba eggaali. 13C1H013.008 And David and all Israel played before God with all their might, and with singing, and with harps, and with psalteries, and with timbrels, and with cymbals, and with trumpets. %%% Dawudi ne Isiraeri yenna ne bazannyira mu maaso ga Katonda n'amaanyi gaabwe gonna; nga bayimba era nga bakuba ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ebisaala, n'amakondeere. 13C1H013.009 And when they came unto the threshingfloor of Chidon, Uzza put forth his hand to hold the ark; for the oxen stumbled. %%% Awo bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, Uzza n'agolola omukono gwe okukwata essanduuko; kubanga ente zeesitadde. 13C1H013.010 And the anger of the LORD was kindled against Uzza, and he smote him, because he put his hand to the ark: and there he died before God %%%0 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n'amutta, kubanga yagolola omukono gwe ku ssanduuko: n'afiira eyo mu maaso ga Katonda. 13C1H013.011 And David was displeased, because the LORD had made a breach upon Uzza: wherefore that place is called Perezuzza to this day. %%% Dawudi n'anyiiga kubanga Mukama ng'awamatukidde Uzza: n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero. 13C1H013.012 And David was afraid of God that day, saying, How shall I bring the ark of God home to me? %%% Dawudi n'atya Katonda ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Naakomyawo ntya essanduuko ya Katonda eka ewange? 13C1H013.013 So David brought not the ark home to himself to the city of David, but carried it aside into the house of Obededom the Gittite. %%% Awo Dawudi n'ataleeta ssanduuko okugireeta gy'ali mu kibuga kya Dawudi, naye n'agikyamya mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 13C1H013.014 And the ark of God remained with the family of Obededom in his house three months. And the LORD blessed the house of Obededom, and all that he had. %%% Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu ng'eri n'aba Obededomu mu nnyumba ye: Mukama n'awa omukisa ennyumba ya Obededomu ne byonna bye yalina. 13C1H014.001 Now Hiram king of Tyre sent messengers to David, and timber of cedars, with masons and carpenters, to build him an house. %%% Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atuma ababaka eri Dawudi n'emivule n'abazimbi b'amayinja n'ababazzi, okumuzimbira ennyumba. 13C1H014.002 And David perceived that the LORD had confirmed him king over Israel, for his kingdom was lifted up on high, because of his people Israel. %%% Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, kubanga obwakabaka bwe bwagulumizibwa waggulu, olw'abantu be Isiraeri. 13C1H014.003 And David took more wives at Jerusalem: and David begat more sons and daughters. %%% Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi e Yerusaalemi: Dawudi ne yeeyongera okuzaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 13C1H014.004 Now these are the names of his children which he had in Jerusalem; Shammua, and Shobab, Nathan, and Solomon, %%% Era gano ge mannya g'abaana be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu, Nasani ne Sulemaani; 13C1H014.005 And Ibhar, and Elishua, and Elpalet, %%% ne Ibukali ne Eriswa ne Erupereti; 13C1H014.006 And Nogah, and Nepheg, and Japhia, %%% ne Noga ne Nefegi ne Yafiya; 13C1H014.007 And Elishama, and Beeliada, and Eliphalet. %%% ne Erisaama ne Beeriyadda ne Erifereti. 13C1H014.008 And when the Philistines heard that David was anointed king over all Israel, all the Philistines went up to seek David. And David heard of it, and went out against them. %%% Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng'afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi: Dawudi n'akiwulira, n'abatabaala. 13C1H014.009 And the Philistines came and spread themselves in the valley of Rephaim. %%% Era Abafirisuuti baali bazze ne bazinda ekiwonvu Lefayimu. 13C1H014.010 And David enquired of God, saying, Shall I go up against the Philistines? And wilt thou deliver them into mine hand? And the LORD said unto him, Go up; for I will deliver them into thine hand. %%% Dawudi n'abuuza Katonda ng'ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n'amugamba nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo. 13C1H014.011 So they came up to Baalperazim; and David smote them there. Then David said, God hath broken in upon mine enemies by mine hand like the breaking forth of waters: therefore they called the name of that place Baalperazim. %%% Awo ne batabaala e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; Dawudi n'ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n'omukono gwange, ng'amazzi bwe gamenyeka. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu. 13C1H014.012 And when they had left their gods there, David gave a commandment, and they were burned with fire. %%% Ne baleka eyo bakatonda baabwe; Dawudi n'alagira ne babookya omuliro. 13C1H014.013 And the Philistines yet again spread themselves abroad in the valley. %%% Abafirisuuti ne bazinda ekiwonvu nate olw'okubiri. 13C1H014.014 Therefore David enquired again of God; and God said unto him, Go not up after them; turn away from them, and come upon them over against the mulberry trees. %%% Dawudi n'abuuza nate Katonda; Katonda n'amugamba nti Totabaala okubagoberera: kyuka obaveeko, obatuukeko ng'abafuluma mu maaso g'emitugunda. 13C1H014.015 And it shall be, when thou shalt hear a sound of going in the tops of the mulberry trees, that then thou shalt go out to battle: for God is gone forth before thee to smite the host of the Philistines. %%% Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g'emitugunda, n'olyoka otabaala: kubanga Katonda atabadde okukukulembera okukuba eggye ery'Abafirisuuti. 13C1H014.016 David therefore did as God commanded him: and they smote the host of the Philistines from Gibeon even to Gazer. %%% Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagira: ne bakuba eggye ery'Abafirisuuti okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri. 13C1H014.017 And the fame of David went out into all lands; and the LORD brought the fear of him upon all nations. %%% Ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna; Mukama n'aleeta entiisa ye ku mawanga gonna. 13C1H015.001 And David made him houses in the city of David, and prepared a place for the ark of God, and pitched for it a tent. %%% Awo Dawudi ne yeezimbira ennyumba mu kibuga kya Dawudi: n'ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n'agikubira eweema. 13C1H015.002 Then David said, None ought to carry the ark of God but the Levites: for them hath the LORD chosen to carry the ark of God, and to minister unto him for ever. %%% Awo Dawudi n'ayogera nti Si kirungi omuntu yenna okusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi: kubanga abo Mukama be yalonda okusitulanga essanduuko ya Katonda, n'okumuweerezanga ennaku zonna. 13C1H015.003 And David gathered all Israel together to Jerusalem, to bring up the ark of the LORD unto his place, which he had prepared for it. %%% Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde. 13C1H015.004 And David assembled the children of Aaron, and the Levites: %%% Dawudi n'akuŋŋaanya batabani ba Alooni n'Abaleevi: 13C1H015.005 Of the sons of Kohath; Uriel the chief, and his brethren an hundred and twenty: %%% ku batabani ba Kokasi; Uliyeri omukulu, ne baganda be kikumi mu abiri: 13C1H015.006 Of the sons of Merari; Asaiah the chief, and his brethren two hundred and twenty: %%% ku batabani ba Merali; Asaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri mu abiri; 13C1H015.007 Of the sons of Gershom; Joel the chief, and his brethren an hundred and thirty: %%% ku batabani ba Gerusomu: Yoweeri omukulu, ne baganda be kikumi mu asatu: 13C1H015.008 Of the sons of Elizaphan; Shemaiah the chief, and his brethren two hundred: %%% ku batabani ba Erizafani; Semaaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri: 13C1H015.009 Of the sons of Hebron; Eliel the chief, and his brethren fourscore: %%% ku batabani ba Kebbulooni; Eryeri omukulu, ne baganda be kinaana: 13C1H015.010 Of the sons of Uzziel; Amminadab the chief, and his brethren an hundred and twelve. %%% ku batabani ba Wuziyeeri; Amminadaabu omukulu, ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri. 13C1H015.011 And David called for Zadok and Abiathar the priests, and for the Levites, for Uriel, Asaiah, and Joel, Shemaiah, and Eliel, and Amminadab, %%% Dawudi n'ayita Zadoki ne Abiyasaali bakabona, n'Abaleevi, Uliyeri ne Asaya ne Yoweeri, Semaaya ne Eryeri ne Amminadaabu, 13C1H015.012 And said unto them, Ye are the chief of the fathers of the Levites: sanctify yourselves, both ye and your brethren, that ye may bring up the ark of the LORD God of Israel unto the place that I have prepared for it. %%% n'abagamba nti Mmwe muli mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi: mwetukuze, mmwe era ne baganda bammwe, mulyoke mulinnyise essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri mu kifo kye ngitegekedde. 13C1H015.013 For because ye did it not at the first, the LORD our God made a breach upon us, for that we sought him not after the due order. %%% Kubanga temwasooka kugisitula, Mukama Katonda waffe kyeyava atuwamatukira, kubanga tetwamunoonya neekiragiro bwe kyali. 13C1H015.014 So the priests and the Levites sanctified themselves to bring up the ark of the LORD God of Israel. %%% Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri. 13C1H015.015 And the children of the Levites bare the ark of God upon their shoulders with the staves thereon, as Moses commanded according to the word of the LORD. %%% Abaana b'Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Katonda ku bibegabega byabwe n'emisituliro gyako nga Musa bwe yalagira ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. 13C1H015.016 And David spake to the chief of the Levites to appoint their brethren to be the singers with instruments of music, psalteries and harps and cymbals, sounding, by lifting up the voice with joy. %%% Dawudi n'agamba Abaleevi abakulu okulonda baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n'ennanga n'ebitaasa, nga babikuba era nga bayimusa eddoboozi n'essanyu, 13C1H015.017 So the Levites appointed Heman the son of Joel; and of his brethren, Asaph the son of Berechiah; and of the sons of Merari their brethren, Ethan the son of Kushaiah; %%% Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, Asafu mutabani wa Berekiya; ne ku batabani ba Merali baganda baabwe, Esani mutabani wa Kusaya; 13C1H015.018 And with them their brethren of the second degree, Zechariah, Ben, and Jaaziel, and Shemiramoth, and Jehiel, and Unni, Eliab, and Benaiah, and Maaseiah, and Mattithiah, and Elipheleh, and Mikneiah, and Obededom, and Jeiel, the porters. %%% era wamu nabo baganda baabwe ab'omutindo ogw'okubiri, Zekkaliya, Beni, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, Eriyaabu, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, abaggazi. 13C1H015.019 So the singers, Heman, Asaph, and Ethan, were appointed to sound with cymbals of brass; %%% Awo abayimbi, Kemani, Asafu, ne Esani, ne balondebwa, nga balina ebitaasa eby'ebikomo okuvuga; 13C1H015.020 And Zechariah, and Aziel, and Shemiramoth, and Jehiel, and Unni, and Eliab, and Maaseiah, and Benaiah, with psalteries on Alamoth; %%% Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya, ne Benaya, nga balina entongooli ez'ekyalamosi; 13C1H015.021 And Mattithiah, and Elipheleh, and Mikneiah, and Obededom, and Jeiel, and Azaziah, with harps on the Sheminith to excel. %%% ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, ne Azaziya, nga balina ennanga ez'ekiseminisi, ez'okuleeterezanga. 13C1H015.022 And Chenaniah, chief of the Levites, was for song: he instructed about the song, because he was skilful. %%% Ne Kenaniya omukulu w'Abaleevi ye yalabiriranga okuyimba: ye yayigirizanga eby'okuyimba kubanga mutegeevu. 13C1H015.023 And Berechiah and Elkanah were doorkeepers for the ark. %%% Ne Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi ab'oku ssanduuko. 13C1H015.024 And Shebaniah, and Jehoshaphat, and Nethaneel, and Amasai, and Zechariah, and Benaiah, and Eliezer, the priests, did blow with the trumpets before the ark of God: and Obededom and Jehiah were doorkeepers for the ark. %%% Ne Sebaniya ne Yosafaati ne Nesaneri ne Amasayi ne Zekkaliya ne Benaya ne Eryeza bakabona be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'essanduuko ya Katonda: ne Obededomu ne Yekiya be baali abaggazi ab'oku ssanduuko. 13C1H015.025 So David, and the elders of Israel, and the captains over thousands, went to bring up the ark of the covenant of the LORD out of the house of Obededom with joy. %%% Awo Dawudi n'abakadde ba Isiraeri n'abaami b'enkumi ne bagenda okulinuyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n'essanyu: 13C1H015.026 And it came to pass, when God helped the Levites that bare the ark of the covenant of the LORD, that they offered seven bullocks and seven rams. %%% awo olwatuuka Katonda bwe yayamba Abaleevi abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, ne bawaayo ente musanvu n'embuzi ennume musanvu. 13C1H015.027 And David was clothed with a robe of fine linen, and all the Levites that bare the ark, and the singers, and Chenaniah the master of the song with the singers: David also had upon him an ephod of linen. %%% Dawudi n'ayambala omunagiro ogwa bafuta ennungi, n'Abaleevi bonna abaasitula essanduuko n'abayimbi ne Kenaniya omukulu w'okuyimba wamu n'abayimbi: era Dawudi yali ayambadde ekkanzu eya bafuta, 13C1H015.028 Thus all Israel brought up the ark of the covenant of the LORD with shouting, and with sound of the cornet, and with trumpets, and with cymbals, making a noise with psalteries and harps. %%% Bwe batyo Isiraeri yenna ne balinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'okwogerera waggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe n'amakondeere n'ebisaala nga bakuba nnyo entongooli n'ennanga. 13C1H015.029 And it came to pass, as the ark of the covenant of the LORD came to the city of David, that Michal, the daughter of Saul looking out at a window saw king David dancing and playing: and she despised him in her heart. %%% Awo olwatuuka essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yali ng'ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'azina era ng'azannya; n'amunyooma mu mutima gwe. 13C1H016.001 So they brought the ark of God, and set it in the midst of the tent that David had pitched for it: and they offered burnt sacrifices and peace offerings before God. %%% Ne bayingiza essanduuko ya Katonda, ne bagisimba wakati mu weema Dawudi gye yagikubira: ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Katonda. 13C1H016.002 And when David had made an end of offering the burnt offerings and the peace offerings, he blessed the people in the name of the LORD. %%% Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama. 13C1H016.003 And he dealt to every one of Israel, both man and woman, to every one a loaf of bread, and a good piece of flesh, and a flagon of wine. %%% N'agabira buli muntu mu Isiraeri, abasajja era n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. 13C1H016.004 And he appointed certain of the Levites to minister before the ark of the LORD, and to record, and to thank and praise the LORD God of Israel: %%% Era n'assaawo abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g'essanduuko ya Mukama, n'okujjukizanga n'okwebazanga Mukama, Katonda wa Isiraeri n'okumutenderezanga: 13C1H016.005 Asaph the chief, and next to him Zechariah, Jeiel, and Shemiramoth, and Jehiel, and Mattithiah, and Eliab, and Benaiah, and Obededom: and Jeiel with psalteries and with harps; but Asaph made a sound with cymbals; %%% Asafu omukulu, addirira Zekkaliya, Yeyeeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, nga balina entongooli n'ennanga; ne Asafu ng'alina ebitaasa nga bivuga nnyo; 13C1H016.006 Benaiah also and Jahaziel the priests with trumpets continually before the ark of the covenant of God. %%% ne Benaya ne Yakaziyeeri bakabona nga balina amakondeere ennaku zonna mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Katonda. 13C1H016.007 Then on that day David delivered first this psalm to thank the LORD into the hand of Asaph and his brethren. %%% Awo ku lunaku olwo Dawudi kwe yasookera okulagira okwebaza Mukama n'omukono gwa Asafu ne baganda be. 13C1H016.008 Give thanks unto the LORD, call upon his name, make known his deeds among the people. %%% Mwebaze Mukama, mukaabirire erinnya lye; Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga. 13C1H016.009 Sing unto him, sing psalms unto him, talk ye of all his wondrous works. %%% Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza; Mwogere ku by'amagero bye byonna. 13C1H016.010 Glory ye in his holy name: let the heart of them rejoice that seek the LORD. %%% Mwenyumirize olw'erinnya lye ettukuvu; Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyuke. 13C1H016.011 Seek the LORD and his strength, seek his face continually. %%% Munoonye Mukama n'amaanyi ge; Munoonye amaaso ge ennaku zonna. 13C1H016.012 Remember his marvellous works that he hath done, his wonders, and the judgments of his mouth; %%% Mujjukire eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango egy'akamwa ke; 13C1H016.013 O ye seed of Israel his servant, ye children of Jacob, his chosen ones. %%% Mmwe ezzadde lya Isiraeri omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. 13C1H016.014 He is the LORD our God; his judgments are in all the earth. %%% Oyo ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna. 13C1H016.015 Be ye mindful always of his covenant; the word which he commanded to a thousand generations; %%% Mujjukire endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi: 13C1H016.016 Even of the covenant which he made with Abraham, and of his oath unto Isaac; %%% (Endagaano) gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka; 13C1H016.017 And hath confirmed the same to Jacob for a law, and to Israel for an everlasting covenant, %%% N'ekyo n'akinyweza eri Yakobo okuba etteeka. Eri Isiraeri okuba endagaano eteriggwaawo: 13C1H016.018 Saying, Unto thee will I give the land of Canaan, the lot of your inheritance; %%% Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwammwe: 13C1H016.019 When ye were but few, even a few, and strangers in it. %%% Bwe mwali abantu abatono omuwendo gwammwe; Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo; 13C1H016.020 And when they went from nation to nation, and from one kingdom to another people; %%% Ne batambulatambulanga mu mawanga agatali gamu: Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala. 13C1H016.021 He suffered no man to do them wrong: yea, he reproved kings for their sakes, %%% Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe; 13C1H016.022 Saying, Touch not mine anointed, and do my prophets no harm. %%% Ng'ayogera nti Temukomanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange. 13C1H016.023 Sing unto the LORD, all the earth; shew forth from day to day his salvation. %%% Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; Mwolese obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku. 13C1H016.024 Declare his glory among the heathen; his marvellous works among all nations. %%% Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna. 13C1H016.025 For great is the LORD, and greatly to be praised: he also is to be feared above all gods. %%% Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Era agwana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. 13C1H016.026 For all the gods of the people are idols: but the LORD made the heavens. %%% Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu. 13C1H016.027 Glory and honour are in his presence; strength and gladness are in his place. %%% Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'essanyu biri mu kifo kye. 13C1H016.028 Give unto the LORD, ye kindreds of the people, give unto the LORD glory and strength. %%% Muwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Muwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi. 13C1H016.029 Give unto the LORD the glory due unto his name: bring an offering, and come before him: worship the LORD in the beauty of holiness. %%% Muwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge: Musinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu: 13C1H016.030 Fear before him, all the earth: the world also shall be stable, that it be not moved. %%% Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana. 13C1H016.031 Let the heavens be glad, and let the earth rejoice: and let men say among the nations, The LORD reigneth. %%% Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Boogere mu mawanga nti Mukama afuga. 13C1H016.032 Let the sea roar, and the fulness thereof: let the fields rejoice, and all that is therein. %%% Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; 13C1H016.033 Then shall the trees of the wood sing out at the presence of the LORD, because he cometh to judge the earth. %%% Emiti egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu mu maaso ga Mukama,Kubanga ajja okusalira ensi emisango. 13C1H016.034 O give thanks unto the LORD; for he is good; for his mercy endureth for ever. %%% Kale mwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 13C1H016.035 And say ye, Save us, O God of our salvation, and gather us together, and deliver us from the heathen, that we may give thanks to thy holy name, and glory in thy praise. %%% Mwogere nti Otulokole, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, Otukuŋŋaanye otuwonye mu mawanga, Okwebaza erinnya lyo ettukuvu, N'okujaguliza ettendo lyo. 13C1H016.036 Blessed be the LORD God of Israel for ever and ever. And all the people said, Amen, and praised the LORD. %%% Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama. 13C1H016.037 So he left there before the ark of the covenant of the LORD Asaph and his brethren, to minister before the ark continually, as every day's work required: %%% Awo n'aleka eyo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama Asafu ne baganda be, okuweererezanga mu maaso g'essanduuko obutayosangawo, ng'omulimu ogwa buli lunaku bwe gwayagalanga: 13C1H016.038 And Obededom with their brethren, threescore and eight; Obededom also the son of Jeduthun and Hosah to be porters: %%% ne Obededomu ne baganda baabwe, nkaaga mu munaana; era ne Obededomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa okuba abaggazi; 13C1H016.039 And Zadok the priest, and his brethren the priests, before the tabernacle of the LORD in the high place that was at Gibeon, %%% ne Zadoki kabona, ne baganda be bakabona, mu maaso g'eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, 13C1H016.040 To offer burnt offerings unto the LORD upon the altar of the burnt offering continually morning and evening, and to do according to all that is written in the law of the LORD, which he commanded Israel; %%% okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n'akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri; 13C1H016.041 And with them Heman and Jeduthun, and the rest that were chosen, who were expressed by name, to give thanks to the LORD, because his mercy endureth for ever; %%% era wamu nabo Kemani ne Yedusuni, n'abalala abaalondebwa, abaayatulwa amannya gaabwe, okwebaza Mukama kubanga okusaasira kwe (kubeerera) emirembe gyonna; 13C1H016.042 And with them Heman and Jeduthun with trumpets and cymbals for those that should make a sound, and with musical instruments of God. And the sons of Jeduthun were porters. %%% era wamu nabo Kemani ne Yedusuni nga balina amakondeere n'ebitaasa olw'abo abagenda okubikuba, era (nga balina) ebireeta ennyimba za Katonda: ne batabani ba Yedusuni okuba ku mulyango. 13C1H016.043 And all the people departed every man to his house: and David returned to bless his house. %%% Abantu bonna ne bagenda buli muntu ewuwe: Dawudi n'addayo okusabira ennyumba ye omukisa. 13C1H017.001 Now it came to pass, as David sat in his house, that David said to Nathan the prophet, Lo, I dwell in an house of cedars, but the ark of the covenant of the LORD remaineth under curtains. %%% Awo olwatuuka Dawudi bwe yabeera mu nnyumba ye, Dawudi n'agamba Nasani nabbi nti Laba, nze mbeera mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama ebeera wansi w'ebitimbe. 13C1H017.002 Then Nathan said unto David, Do all that is in thine heart; for God is with thee. %%% Nasani n'agamba Dawudi nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Katonda ali wamu naawe. 13C1H017.003 And it came to pass the same night, that the word of God came to Nathan, saying, %%% Awo olwatuuka mu kiro ekyo ekigambo kya Katonda ne kimujjira Nasani nti 13C1H017.004 Go and tell David my servant, Thus saith the LORD, Thou shalt not build me an house to dwell in: %%% Genda ogambe Dawudi omuddu wange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Tonzimbira nnyumba ya kubeeramu: 13C1H017.005 For I have not dwelt in an house since the day that I brought up Israel unto this day; but have gone from tent to tent, and from one tabernacle to another. %%% kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnalinnyisa Isiraeri ne leero; naye navanga mu weema ne mbeera mu weema, era navanga mu nsiisira ne mbeera mu nsiisira endala. 13C1H017.006 Wheresoever I have walked with all Israel, spake I a word to any of the judges of Israel, whom I commanded to feed my people, saying, Why have ye not built me an house of cedars? %%% Mu bifo byonna gye nnaakatambula ne Isiraeri yenna nali njogedde ekigambo n'omulamuzi yenna ku balamuzi ba Isiraeri, be nnalagira okuliisa abantu bange, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule? 13C1H017.007 Now therefore thus shalt thou say unto my servant David, Thus saith the LORD of hosts, I took thee from the sheepcote, even from following the sheep, that thou shouldest be ruler over my people Israel: %%% Kale nno bw'otyo bw'onoogamba omuddu wange Dawudi, nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, okugoberera endiga, obeere omulangira w'abantu bange Isiraeri: 13C1H017.008 And I have been with thee whithersoever thou hast walked, and have cut off all thine enemies from before thee, and have made thee a name like the name of the great men that are in the earth. %%% era nabeeranga naawe buli gye wagendanga, ne mmalawo abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya okufaanana erinnya ly'abakulu abali mu nsi. 13C1H017.009 Also I will ordain a place for my people Israel, and will plant them, and they shall dwell in their place, and shall be moved no more; neither shall the children of wickedness waste them any more, as at the beginning, %%% Era ndibateekerawo ekifo abantu bange Isiraeri, era ndibasimba babeere mu kifo kyabwe bo, baleme okujjulukuka nate; so n'abaana b'obubi tebaabazikirizenga nate, ng'olubereberye, 13C1H017.010 And since the time that I commanded judges to be over my people Israel. Moreover I will subdue all thine enemies. Furthermore I tell thee that the LORD will build thee an house. %%% era (nga bwe kyali) okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndiwangula abalabe bo bonna. Era nkugamba nga Mukama alikuzimbira ennyumba. 13C1H017.011 And it shall come to pass, when thy days be expired that thou must go to be with thy fathers, that I will raise up thy seed after thee, which shall be of thy sons; and I will establish his kingdom. %%% Awo olulituuka, ennaku zo bwe zirituukirira, n'ogwana okugenda okubeera awamu ne bajjajja bo, ne ndyoka nnyimiriza ezzadde lyo eririddawo oluvannyuma lwo, eririva mu batabani bo; era ndinyweza obwakabaka bwe: 13C1H017.012 He shall build me an house, and I will stablish his throne for ever. %%% Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ye emirembe gyonna. 13C1H017.013 I will be his father, and he shall be my son: and I will not take my mercy away from him, as I took it from him that was before thee: %%% Nze naaberanga kitaawe, naye anaabanga mwana wange; so siimuggyengako kusaasira kwange, nga bwe nnakuggya ku oyo ayakusooka: 13C1H017.014 But I will settle him in mine house and in my kingdom for ever: and his throne shall be established for evermore. %%% naye naamutuuzanga mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna: n'entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna. 13C1H017.015 According to all these words, and according to all this vision, so did Nathan speak unto David. %%% Ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali era ng'okwolesebwa okwo kwonna bwe kwali, bw'atyo Nasani bwe yagamba Dawudi. 13C1H017.016 And David the king came and sat before the LORD, and said, Who am I, O LORD God, and what is mine house, that thou hast brought me hitherto? %%% Awo Dawudi kabaka n'ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti Nze ani, ai Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa ne wano? 13C1H017.017 And yet this was a small thing in thine eyes, O God; for thou hast also spoken of thy servant's house for a great while to come, and hast regarded me according to the estate of a man of high degree, O LORD God. %%% era ekigambo kino kyali kitono mu maaso go, ai Katonda; naye oyogedde ku nnyumba y'omuddu wo olw'ebiro bingi ebigenda okujja, era onkuzizza nnyo ng'obukulu bw'omusajja ow'ekitiibwa ekinene bwe buli, ai Mukama Katonda. 13C1H017.018 What can David speak more to thee for the honour of thy servant? for thou knowest thy servant. %%% Kiki Dawudi ky'ayinza okweyongera nate okugamba olw'ekitiibwa omuddu wo ky'assibwamu? kubanga ggwe omanyi omuddu wo. 13C1H017.019 O LORD, for thy servant's sake, and according to thine own heart, hast thou done all this greatness, in making known all these great things. %%% Ai Mukama, ku lw'omuddu wo era ng'omutima gwo ggwe bwe guli, bw'otyo bw'oleese obukulu buno bwonna, okumanyisa ebikulu (bino) byonna. 13C1H017.020 O LORD, there is none like thee, neither is there any God beside thee, according to all that we have heard with our ears. %%% Ai Mukama, tewali akufaanana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twawulira n'amatu gaffe. 13C1H017.021 And what one nation in the earth is like thy people Israel, whom God went to redeem to be his own people, to make thee a name of greatness and terribleness, by driving out nations from before thy people, whom thou hast redeemed out of Egypt? %%% Era ggwanga ki erimu eriri mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yagenda okwenunulira okuba eggwanga, okwefunira erinnya n'ebigambo ebikulu eby'entiisa, ng'ogoba amawanga mu maaso g'abantu bo, be wanunula okubaggya mu Misiri? 13C1H017.022 For thy people Israel didst thou make thine own people for ever; and thou, LORD, becamest their God. %%% Kubanga abantu bo Isiraeri wabafuula abantu bo ggwe emirembe gyonna: naawe, Mukama, wafuuka Katonda waabwe. 13C1H017.023 Therefore now, LORD, let the thing that thou hast spoken concerning thy servant and concerning his house be established for ever, and do as thou hast said. %%% Kale nno, ai Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinywezebwenga emirembe gyonna, era okolonga nga bw'oyogedde. 13C1H017.024 Let it even be established, that thy name may be magnified for ever, saying, The LORD of hosts is the God of Israel, even a God to Israel: and let the house of David thy servant be established before thee. %%% N'erinnya lyo, linywezebwenga ligulumizibwenga emirembe gyonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda wa Isiraeri, Katonda eri Isiraeri: era ennyumba ya Dawudi omuddu wo enywezebwa mu maaso go. 13C1H017.025 For thou, O my God, hast told thy servant that thou wilt build him an house: therefore thy servant hath found in his heart to pray before thee. %%% Kubanga ggwe, ai Katonda wange, obikkulidde omuddu wo ng'olimuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde alaba okusaba mu maaso go. 13C1H017.026 And now, LORD, thou art God, and hast promised this goodness unto thy servant: %%% Era nno, ai Mukama, ggwe Katonda, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi: 13C1H017.027 Now therefore let it please thee to bless the house of thy servant, that it may be before thee for ever: for thou blessest, O LORD, and it shall be blessed for ever. %%% era kaakano osiimye okuwa omukisa ennyumba y'omuddu wo, ebeerere mu maaso go emirembe gyonna: kubanga ggwe, ai Mukama, owadde omukisa, era eweereddwa omukisa emirembe gyonna. 13C1H018.001 Now after this it came to pass, that David smote the Philistines, and subdued them, and took Gath and her towns out of the hand of the Philistines. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo olwatuuka Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula, n'aggya Gaasi n'ebyalo byako mu mukono gw'Abafirisuuti. 13C1H018.002 And he smote Moab; and the Moabites became David's servants, and brought gifts. %%% N'akuba Mowaabu; Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuleeteranga ebirabo. 13C1H018.003 And David smote Hadarezer king of Zobah unto Hamath, as he went to stablish his dominion by the river Euphrates. %%% Dawudi n'akuba Kadalezeri kabaka w'e Zoba okutuusa e Kamasi, bwe yali ng'agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati. 13C1H018.004 And David took from him a thousand chariots, and seven thousand horsemen, and twenty thousand footmen: David also houghed all the chariot horses, but reserved of them an hundred chariots. %%% Dawudi n’amunyagako amagaali lukumi, n'abeebagala embalaasi kasanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n’azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi. 13C1H018.005 And when the Syrians of Damascus came to help Hadarezer king of Zobah, David slew of the Syrians two and twenty thousand men. %%% Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri. 13C1H018.006 Then David put garrisons in Syriadamascus; and the Syrians became David's servants, and brought gifts. Thus the LORD preserved David whithersoever he went. %%% Awo Dawudi n'ateeka (ebigo) mu Busuuli obw'e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. 13C1H018.007 And David took the shields of gold that were on the servants of Hadarezer, and brought them to Jerusalem. %%% Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadalezeri n'azitwala e Yerusaalemi. 13C1H018.008 Likewise from Tibhath, and from Chun, cities of Hadarezer, brought David very much brass, wherewith Solomon made the brasen sea, and the pillars, and the vessels of brass. %%% Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n'aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey'ekikomo, n'empagi, n'ebintu eby'ebikomo. 13C1H018.009 Now when Tou king of Hamath heard how David had smitten all the host of Hadarezer king of Zobah; %%% Awo Toowu kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadalezeri kabaka w'e Zoba, 13C1H018.010 He sent Hadoram his son to king David, to enquire of his welfare, and to congratulate him, because he had fought against Hadarezer, and smitten him; (for Hadarezer had war with Tou;) and with him all manner of vessels of gold and silver and brass. %%% n'atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n'amukuba; kubanga Kadalezeri yalwananga ne Toowu; era n'ebintu ebya zaabu n'effeeza n'ebikomo eby'engeri zonna byali naye. 13C1H018.011 Them also king David dedicated unto the LORD, with the silver and the gold that he brought from all these nations; from Edom, and from Moab, and from the children of Ammon, and from the Philistines, and from Amalek. %%% Era n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwonga eri Mukama, wamu n'effeeza n'ezaabu bye yanyaga mu mawanga gonna; Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki. 13C1H018.012 Moreover Abishai the son of Zeruiah slew of the Edomites in the valley of salt eighteen thousand. %%% Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'atta ku Baedomu mu Kiwonvu eky'Omunnyo lukumi mu lunaana. 13C1H018.013 And he put garrisons in Edom; and all the Edomites became David's servants. Thus the LORD preserved David whithersoever he went. %%% N'ateeka ebigo mu Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi okuwangula buli gye yagendanga yonna. 13C1H018.014 So David reigned over all Israel, and executed judgment and justice among all his people. %%% Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; n'atuukiriza emisango n'eby'ensonga eri abantu be bonna: 13C1H018.015 And Joab the son of Zeruiah was over the host; and Jehoshaphat the son of Ahilud, recorder. %%% Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi Ye yali omujjukiza. 13C1H018.016 And Zadok the son of Ahitub, and Abimelech the son of Abiathar, were the priests; and Shavsha was scribe; %%% Ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Savusa ye yali omuwandiisi; 13C1H018.017 And Benaiah the son of Jehoiada was over the Cherethites and the Pelethites; and the sons of David were chief about the king. %%% ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu okwetooloola kabaka. 13C1H019.001 Now it came to pass after this, that Nahash the king of the children of Ammon died, and his son reigned in his stead. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Nakasi kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, mutabani we n'afuga mu kifo kye. 13C1H019.002 And David said, I will shew kindness unto Hanun the son of Nahash, because his father shewed kindness to me. And David sent messengers to comfort him concerning his father. So the servants of David came into the land of the children of Ammon to Hanun, to comfort him. %%% Dawudi n'ayogera nti Naalaga eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yandaga eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka okumukubagiza olwa kitaawe: Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza. 13C1H019.003 But the princes of the children of Ammon said to Hanun, Thinkest thou that David doth honour thy father, that he hath sent comforters unto thee? are not his servants come unto thee for to search, and to overthrow, and to spy out the land? %%% Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu ekitiibwa kitaawo, n'okutuma n'akutumira abakubagiza? abaddu be tebazze okunoonya n'okumenya n'okuketta ensi? 13C1H019.004 Wherefore Hanun took David's servants, and shaved them, and cut off their garments in the midst hard by their buttocks, and sent them away. %%% Awo Kanuni n'addira abaddu ba Dawudi n'abamwa, n'asalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika. 13C1H019.005 Then there went certain, and told David how the men were served. And he sent to meet them: for the men were greatly ashamed. And the king said, Tarry at Jericho until your beards be grown, and then return. %%% Awo abamu ne bagenda ne babuulira Dawudi bye babakoze abasajja. N'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja nga bakwatiddwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo. 13C1H019.006 And when the children of Ammon saw that they had made themselves odious to David, Hanun and the children of Ammon sent a thousand talents of silver to hire them chariots and horsemen out of Mesopotamia, and out of Syriamaachah, and out of Zobah. %%% Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga bamutamye Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi okugulirira amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba. 13C1H019.007 So they hired thirty and two thousand chariots, and the king of Maachah and his people; who came and pitched before Medeba. And the children of Ammon gathered themselves together from their cities, and came to battle. %%% Awo ne bagulirira amagaali obukumi busatu mu enkumi bbiri ne kabaka w’e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana. 13C1H019.008 And when David heard of it, he sent Joab, and all the host of the mighty men. %%% Awo Dawudi bwe yakiwulira n'agaba Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. 13C1H019.009 And the children of Ammon came out, and put the battle in array before the gate of the city: and the kings that were come were by themselves in the field. %%% Awo abaana ba Amoni ne batabaala, ne basimbira ennyiriri awali wankaaki w'ekibuga ne bakabaka abaali bazze baali bokka ku ttale: 13C1H019.010 Now when Joab saw that the battle was set against him before and behind, he chose out of all the choice of Israel, and put them in array against the Syrians. %%% Awo Yowaabu bwe yalaba ng'olutalo balusimbye mu maaso ge n'ennyuma we, n'alonda ku basajja bonna aba Isiraeri abalonde, n'abasimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli. 13C1H019.011 And the rest of the people he delivered unto the hand of Abishai his brother, and they set themselves in array against the children of Ammon. %%% N'abantu abalala bonna n'abateresa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, ne basimba ennyiriri okulwana n'abaana ba Amoni. 13C1H019.012 And he said, If the Syrians be too strong for me, then thou shalt help me: but if the children of Ammon be too strong for thee, then I will help thee. %%% N'ayogera nti Abasuuli bwe banannyinga amaanyi, kale ggwe ononnyamba: naye abaana ba Amooni bwe banaakuyinga amaanyi, kale nze naakuyamba. 13C1H019.013 Be of good courage, and let us behave ourselves valiantly for our people, and for the cities of our God: and let the LORD do that which is good in his sight. %%% Guma omwoyo, twerage obusajja olw'abantu baffe, n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole ekyo ky'anaasiima. 13C1H019.014 So Joab and the people that were with him drew nigh before the Syrians unto the battle; and they fled before him. %%% Awo Yowaabu n'abantu abali naye ne basembera mu maaso g'Abasuuli okulwana; ne badduka mu maaso ge. 13C1H019.015 And when the children of Ammon saw that the Syrians were fled, they likewise fled before Abishai his brother, and entered into the city. Then Joab came to Jerusalem. %%% Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo bwe batyo ne badduka mu maaso ga Abisaayi muganda we, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'ajja e Yerusaalemi. 13C1H019.016 And when the Syrians saw that they were put to the worse before Israel, they sent messengers, and drew forth the Syrians that were beyond the river: and Shophach the captain of the host of Hadarezer went before them. %%% Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe. 13C1H019.017 And it was told David; and he gathered all Israel, and passed over Jordan, and came upon them, and set the battle in array against them. So when David had put the battle in array against the Syrians, they fought with him. %%% Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna n'asomoka Yoludaani, n'abatuukako n'asimba ennyiriri okulwana nabo. Awo Dawudi bwe yamala okusimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli, ne balwana naye. 13C1H019.018 But the Syrians fled before Israel; and David slew of the Syrians seven thousand men which fought in chariots, and forty thousand footmen, and killed Shophach the captain of the host. %%% Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali kasanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi buna, n'atta Sofaki omukulu w'eggye. 13C1H019.019 And when the servants of Hadarezer saw that they were put to the worse before Israel, they made peace with David, and became his servants: neither would the Syrians help the children of Ammon any more. %%% Awo abaddu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Dawudi, ne bamuweereza; so n'Abasuuli ne batakkiriza kuyamba abaana ba Amoni nate olw'okubiri. 13C1H020.001 And it came to pass, that after the year was expired, at the time that kings go out to battle, Joab led forth the power of the army, and wasted the country of the children of Ammon, and came and besieged Rabbah. But David tarried at Jerusalem. And Joab smote Rabbah, and destroyed it. %%% Awo olwatuuka omwaka bwe gwatuukirira mu kiseera bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'atabaaza amaanyi ag'eggye, n'azisa ensi y'abaana ba Amoni, n'ajja n'azingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akisuula. 13C1H020.002 And David took the crown of their king from off his head, and found it to weigh a talent of gold, and there were precious stones in it; and it was set upon David's head: and he brought also exceeding much spoil out of the city. %%% Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, n'alaba obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: n'aggyamu omunyago ogw'omu kibuga mungi nnyo. 13C1H020.003 And he brought out the people that were in it, and cut them with saws, and with harrows of iron, and with axes. Even so dealt David with all the cities of the children of Ammon. And David and all the people returned to Jerusalem. %%% N'aggyamu abantu abaali omwo; n'abasala n'emisumeeno n'amannyo ag'ebyuma n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi. 13C1H020.004 And it came to pass after this, that there arose war at Gezer with the Philistines; at which time Sibbechai the Hushathite slew Sippai, that was of the children of the giant: and they were subdued. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri n'Abafirisuuti: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu: ne bawangulwa. 13C1H020.005 And there was war again with the Philistines; and Elhanan the son of Jair slew Lahmi the brother of Goliath the Gittite, whose spear staff was like a weaver's beam. %%% Ne waba nate entalo n'Abafirisuuti; Erukanani mutabani wa Yayiri n'atta Lakami muganda wa Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwali ng'omuti ogulukirwako engoye. 13C1H020.006 And yet again there was war at Gath, where was a man of great stature, whose fingers and toes were four and twenty, six on each hand, and six on each foot and he also was the son of the giant. %%% Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, engalo ze n'obugere bwe amakumi abiri mu buna, buli mukono mukaaga, na buli kigere mukaaga; era naye yazaalirwa erintu eryo. 13C1H020.007 But when he defied Israel, Jonathan the son of Shimea David's brother slew him. %%% Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'amutta. 13C1H020.008 These were born unto the giant in Gath; and they fell by the hand of David, and by the hand of his servants. %%% Abo baazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi, n'omukono gw'abaddu be. 13C1H021.001 And Satan stood up against Israel, and provoked David to number Israel. %%% Awo Setaani n'ayimirira okulwana ne Isiraeri, n'asendasenda Dawudi okubala Isiraeri. 13C1H021.002 And David said to Joab and to the rulers of the people, Go, number Israel from Beersheba even to Dan; and bring the number of them to me, that I may know it. %%% Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulu b'abantu nti Mugende mubale Isiraeri okuva e Beeruseba okutuusa e Ddaani; munzirize ebigambo ntegeere omuwendo gwabwe. 13C1H021.003 And Joab answered, The LORD make his people an hundred times so many more as they be: but, my lord the king, are they not all my lord's servants? why then doth my lord require this thing? why will he be a cause of trespass to Israel? %%% Yowaabu n'ayogera nti Mukama ayongere abantu be okusinga omuwendo gwabwe oguliwo kaakano emirundi kikumi: naye, mukama wange kabaka, bonna si baddu ba mukama wange? mukama wange kiki ekimulagizza ekigambo kino? kiki ekimwagaza okuba ensonga y'omusango eri Isiraeri? 13C1H021.004 Nevertheless the king's word prevailed against Joab. Wherefore Joab departed, and went throughout all Israel, and came to Jerusalem. %%% Era naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu: Yowaabu kyeyava agenda n'abuna Isiraeri yonna, n'ajja e Yerusaalemi. 13C1H021.005 And Joab gave the sum of the number of the people unto David. And all they of Israel were a thousand thousand and an hundred thousand men that drew sword: and Judah was four hundred threescore and ten thousand men that drew sword. %%% Yowaabu n'aleetera Dawudi omuwendo ogw'abantu gwe baabalibwa. Abantu bonna aba Isiraeri baali kakadde mu kasiriivu abasajja abaasowolanga ebitala: ne Yuda baali abasajja obusiriivu buna mu obukumi musanvu abaasowolanga ebitala. 13C1H021.006 But Levi and Benjamin counted he not among them: for the king's word was abominable to Joab. %%% Naye teyassaako Leevi ne Benyamini: kubanga ekigambo kya kabaka kyamutama Yowaabu. 13C1H021.007 And God was displeased with this thing; therefore he smote Israel. %%% Katonda n'anyiigira ekigambo ekyo; kyeyava abonyaabonya Isiraeri. 13C1H021.008 And David said unto God, I have sinned greatly, because I have done this thing: but now, I beseech thee, do away the iniquity of thy servant; for I have done very foolishly. %%% Dawudi n'agamba Katonda nti Nnyonoonye nnyo, kubanga nakola ekigambo ekyo: naye kaakano, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bwa muddu wo; kubanga nakola eky'obusirusiru bungi. 13C1H021.009 And the LORD spake unto Gad, David's seer, saying, %%% Mukama n'agamba Gaadi nabbi wa Dawudi nti 13C1H021.010 Go and tell David, saying, Thus saith the LORD, I offer thee three things: choose thee one of them, that I may do it unto thee. %%% Genda ogambe Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti nkuteekeddewo ebigambo bisatu: weerobozeeko ekimu, nkukikole. 13C1H021.011 So Gad came to David, and said unto him, Thus saith the LORD, Choose thee %%% Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Weerobozeeko ky'onooyagala; 13C1H021.012 Either three years' famine; or three months to be destroyed before thy foes, while that the sword of thine enemies overtaketh thee; or else three days the sword of the LORD, even the pestilence, in the land, and the angel of the LORD destroying throughout all the coasts of Israel. Now therefore advise thyself what word I shall bring again to him that sent me. %%% oba emyaka esatu egy'enjala; oba emyezi esatu okumalirwawo mu maaso g'abalabe bo, ekitala ky'abalabe bo nga kikutuukako; oba ekitala kya Mukama ennaku ssatu, kawumpuli ng'ali mu nsi; ne malayika wa Mukama ng'azikiriza mu nsalo zonna eza Isiraeri. Kale nno, lowooza bwe mba mmuddamu oyo antumye. 13C1H021.013 And David said unto Gad, I am in a great strait: let me fall now into the hand of the LORD; for very great are his mercies: but let me not fall into the hand of man. %%% Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: ngwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi nnyo: nneme okugwa mu mukono gw'abantu. 13C1H021.014 So the LORD sent pestilence upon Israel: and there fell of Israel seventy thousand men. %%% Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri: awo ku Isiraeri ne kufa abasajja obukumi musanvu. 13C1H021.015 And God sent an angel unto Jerusalem to destroy it: and as he was destroying, the LORD beheld, and he repented him of the evil, and said to the angel that destroyed, It is enough, stay now thine hand. And the angel of the LORD stood by the threshingfloor of Ornan the Jebusite. %%% Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza: awo ng'anaatera okuzikiriza, Mukama n'atunula, ne yejjusa akabi, n'agamba malayika azikiriza nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Malayika wa Mukama n'ayimirira awali egguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 13C1H021.016 And David lifted up his eyes, and saw the angel of the LORD stand between the earth and the heaven, having a drawn sword in his hand stretched out over Jerusalem. Then David and the elders of Israel, who were clothed in sackcloth, fell upon their faces. %%% Dawudi n'ayimusa amaaso ge n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte ekitala ekisowoddwa mu ngalo ze, ekigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n'abakadde, nga bambadde ebibukutu, ne balyoka bavuunama amaaso gaabwe. 13C1H021.017 And David said unto God, Is it not I that commanded the people to be numbered? even I it is that have sinned and done evil indeed; but as for these sheep, what have they done? let thine hand, I pray thee, O LORD my God, be on me, and on my father's house; but not on thy people, that they should be plagued. %%% Dawudi n'agamba Katonda nti Si nze nalagira okubala abantu? Nze nnyonoonye ne nkola eby'ekyejo kingi; naye endiga zino bakoze ki bo? nkwegayiridde, ai Mukama Katonda wange, omukono gwo gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; naye guleme okuba ku bantu bo babe ne kawumpuli. 13C1H021.018 Then the angel of the LORD commanded Gad to say to David, that David should go up, and set up an altar unto the LORD in the threshingfloor of Ornan the Jebusite. %%% Awo malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, Dawudi ayambuke, azimbire ekyoto eri Mukama mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 13C1H021.019 And David went up at the saying of Gad, which he spake in the name of the LORD. %%% Dawudi n'ayambuka olw'ekigambo kya Gaadi, kye yayogera mu linnya lya Mukama. 13C1H021.020 And Ornan turned back, and saw the angel; and his four sons with him hid themselves. Now Ornan was threshing wheat. %%% Olunaani n'akyuka n'alaba malayika; ne batabani be abana abaali naye ne beekweka. Era Olunaani yali ng'awuula eŋŋaano. 13C1H021.021 And as David came to Ornan, Ornan looked and saw David, and went out of the threshingfloor, and bowed himself to David with his face to the ground. %%% Awo Dawudi bwe yajja eri Olunaani, Olunaani n'atunula n'alaba Dawudi, n'ava mu gguuliro, n'avuunamira Dawudi amaaso ge. 13C1H021.022 Then David said to Ornan, Grant me the place of this threshingfloor, that I may build an altar therein unto the LORD: thou shalt grant it me for the full price: that the plague may be stayed from the people. %%% Awo Dawudi n'agamba Olunaani nti Mpa ekibanja eky'egguuliro lino, nzimbewo ekyoto eri Mukama; onoogulana nange n'ebintu ng'omuwendo gwalyo gwennyini bwe guli obutaseera: kawumpuli aziyizibwe mu bantu. 13C1H021.023 And Ornan said unto David, Take it to thee, and let my lord the king do that which is good in his eyes: lo, I give thee the oxen also for burnt offerings, and the threshing instruments for wood, and the wheat for the meat offering; I give it all. %%% Awo Olunaani n’agamba Dawudi nti Lyetwalire, mukama wange kabaka akole ekyo ky'anaasiima: laba, nkuwadde ente okuba ebiweebwayo ebyokebwa n'ebintu ebiwuula okuba enku n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky'obutta; byonna mbiwa buwa. 13C1H021.024 And king David said to Ornan, Nay; but I will verily buy it for the full price: for I will not take that which is thine for the LORD, nor offer burnt offerings without cost. %%% Kabaka Dawudi n'agamba Olunaani nti Nedda; naye mazima naaligula n'ebintu obutaseera: kubanga siitoole bibyo okuwa Mukama, so siiweeyo ekiweebwayo ekyokebwa ekitanzitidde byange. 13C1H021.025 So David gave to Ornan for the place six hundred shekels of gold by weight. %%% Awo Dawudi n'awa Olunaani okugula ekibanja sekeri eza zaabu ezipimibwa lukaaga. 13C1H021.026 And David built there an altar unto the LORD, and offered burnt offerings and peace offerings, and called upon the LORD; and he answered him from heaven by fire upon the altar of burnt offering. %%% Dawudi n'azimba eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asaba Mukama; n'amuddamu n'omuliro ng'ayima mu ggulu ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa. 13C1H021.027 And the LORD commanded the angel; and he put up his sword again into the sheath thereof. %%% Mukama n'alagira malayika; n'azza ekitala kye mu kiraato kyakyo. 13C1H021.028 At that time when David saw that the LORD had answered him in the threshingfloor of Ornan the Jebusite, then he sacrificed there. %%% Mu biro ebyo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, n'aweerayo eyo ssaddaaka. 13C1H021.029 For the tabernacle of the LORD, which Moses made in the wilderness, and the altar of the burnt offering, were at that season in the high place at Gibeon. %%% Kubanga eweema ya Mukama, Musa gye yakola mu ddungu, n'ekyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa, mu biro ebyo nga biri mu kifo ekigulumivu e Gibyoni. 13C1H021.030 But David could not go before it to enquire of God: for he was afraid because of the sword of the angel of the LORD. %%% Naye Dawudi n'atayinza kujja mu maaso gaayo okubuuza Katonda; kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama. 13C1H022.001 Then David said, This is the house of the LORD God, and this is the altar of the burnt offering for Israel. %%% Awo Dawudi n'ayogera nti Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri. 13C1H022.002 And David commanded to gather together the strangers that were in the land of Israel; and he set masons to hew wrought stones to build the house of God. %%% Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu nsi ya Isiraeri; n'assaawo ab'amayinja okutema amayinja amabajje okuzimba ennyumba ya Katonda. 13C1H022.003 And David prepared iron in abundance for the nails for the doors of the gates, and for the joinings; and brass in abundance without weight; %%% Dawudi n'ategeka ebyuma bingi olw'enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika; 13C1H022.004 Also cedar trees in abundance: for the Zidonians and they of Tyre brought much cedar wood to David. %%% n'emivule egitabalika: kubanga Abazidoni n'Abatuulo baaleeta emivule mingi eri Dawudi. 13C1H022.005 And David said, Solomon my son is young and tender, and the house that is to be builded for the LORD must be exceeding magnifical, of fame and of glory throughout all countries: I will therefore now make preparation for it. So David prepared abundantly before his death. %%% Dawudi n'ayogera nti Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n’ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna: kyendiva ngitegekera. Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa. 13C1H022.006 Then he called for Solomon his son, and charged him to build an house for the LORD God of Israel. %%% Awo n'ayita Sulemaani mutabatii we n'amukuutira okuzimbira ennyumba Mukama Katonda wa Isiraeri. 13C1H022.007 And David said to Solomon, My son, as for me, it was in my mind to build an house unto the name of the LORD my God: %%% Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti Nze, kyali mu mutima gwange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba. 13C1H022.008 But the word of the LORD came to me, saying, Thou hast shed blood abundantly, and hast made great wars: thou shalt not build an house unto my name, because thou hast shed much blood upon the earth in my sight. %%% Naye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo enkulu: tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange; 13C1H022.009 Behold, a son shall be born to thee, who shall be a man of rest; and I will give him rest from all his enemies round about: for his name shall be Solomon, and I will give peace and quietness unto Israel in his days. %%% laba, olizaalirwa omwana wa bulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna: kubanga erinnya lye aliba Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye: 13C1H022.010 He shall build an house for my name; and he shall be my son, and I will be his father; and I will establish the throne of his kingdom over Israel for ever. %%% oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange naabanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ku Isiraeri emirembe gyonna. 13C1H022.011 Now, my son, the LORD be with thee; and prosper thou, and build the house of the LORD thy God, as he hath said of thee. %%% Kale, mwana wange, Mukama abe naawe; olabe omukisa, ozimbe ennyumba ya Mukama Katonda wo, nga bwe yakwogerako. 13C1H022.012 Only the LORD give thee wisdom and understanding, and give thee charge concerning Israel, that thou mayest keep the law of the LORD thy God. %%% Kyokka Mukama akuwe amagezi n'okutegeera, akukuutire ebya Isiraeri; olyoke okwate amateeka ga Mukama Katonda wo. 13C1H022.013 Then shalt thou prosper, if thou takest heed to fulfil the statutes and judgments which the LORD charged Moses with concerning Israel: be strong, and of good courage; dread not, nor be dismayed. %%% Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'emisango, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri: ba n'amaanyi ogume omwoyo; totya so totekemuka. 13C1H022.014 Now, behold, in my trouble I have prepared for the house of the LORD an hundred thousand talents of gold, and a thousand thousand talents of silver; and of brass and iron without weight; for it is in abundance: timber also and stone have I prepared; and thou mayest add thereto. %%% Laba nno, mu kubonyabonyezebwa kwange ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu ne talanta eza ffeeza kakadde; n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo: era n'emiti n'amayinja ntegese; oyongereko ggwe. 13C1H022.015 Moreover there are workmen with thee in abundance, hewers and workers of stone and timber, and all manner of cunning men for every manner of work. %%% Era nate waliwo naawe abakozi b'emirimu bangi nnyo, abatema n'abakola emirimu egy'amayinja n'emiti, n'abantu bonna abalina amagezi ag'omulimu gwonna; 13C1H022.016 Of the gold, the silver, and the brass, and the iron, there is no number. Arise therefore, and be doing, and the LORD be with thee. %%% zaabu ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma tebibalika; golokoka okole, era Mukama abeere naawe. 13C1H022.017 David also commanded all the princes of Israel to help Solomon his son, saying, %%% Era Dawudi n'alagira n'abakulu bonna aba Isiraeri okuyamba Sulemaani mutabani we, ng'ayogera nti 13C1H022.018 Is not the LORD your God with you? and hath he not given you rest on every side? for he hath given the inhabitants of the land into mine hand; and the land is subdued before the LORD, and before his people. %%% Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? era tabawadde mirembe enjuyi zonna? kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be. 13C1H022.019 Now set your heart and your soul to seek the LORD your God; arise therefore, and build ye the sanctuary of the LORD God, to bring the ark of the covenant of the LORD, and the holy vessels of God, into the house that is to be built to the name of the LORD. %%% Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; kale mugolokoke muzimbe ekiggwa kya Mukama Katonda, okuleeta essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda okubiyingiza mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama. 13C1H023.001 So when David was old and full of days, he made Solomon his son king over Israel. %%% Awo Dawudi yali ng'akaddiye era ng'awangadde ennaku nnyingi; n'afuula Sulemaani mutabani we kabaka wa Isiraeri. 13C1H023.002 And he gathered together all the princes of Israel, with the priests and the Levites. %%% N'akuŋŋaanya abakulu bonna aba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi. 13C1H023.003 Now the Levites were numbered from the age of thirty years and upward: and their number by their polls, man by man, was thirty and eight thousand. %%% Abaleevi ne babalibwa okuva ku myaka amakumi asatu n'okukirawo: n'omuwendo gwabwe ng'emitwe bwe gyali buli muntu kinnoomu gwali obukumi busatu mu kanaana. 13C1H023.004 Of which, twenty and four thousand were to set forward the work of the house of the LORD; and six thousand were officers and judges: %%% Ku abo obukumi bubiri mu enkumi nnya ba kulabirira mulimu gwa mu nnyumba ya Mukama; n'akakaaga baami n'abaasalanga emisango: 13C1H023.005 Moreover four thousand were porters; and four thousand praised the LORD with the instruments which I made, said David, to praise therewith. %%% n'enkumi nnya baggazi; era nate enkumi nnya baatenderezanga Mukama n'ebintu bye nnakola, bwe yayogera Dawudi, okutenderezanga nabyo. 13C1H023.006 And David divided them into courses among the sons of Levi, namely, Gershon, Kohath, and Merari. %%% Dawudi n'abasalamu empalo ng'abaana ba Leevi bwe baali; Gerusoni, Kokasi, ne Merali. 13C1H023.007 Of the Gershonites were, Laadan, and Shimei. %%% Ku Bagerusoni; Ladani ne Simeeyi. 13C1H023.008 The sons of Laadan; the chief was Jehiel, and Zetham, and Joel, three. %%% Batabani ba Ladani; Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu. 13C1H023.009 The sons of Shimei; Shelomith, and Haziel, and Haran, three. These were the chief of the fathers of Laadan. %%% Batabani ba Simeeyi; Seromosi, ne Kaziyeri, ne Kalani, basatu. Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Ladani. 13C1H023.010 And the sons of Shimei were, Jahath, Zina, and Jeush, and Beriah. These four were the sons of Shimei. %%% Ne batabani ba Simeeyi: Yakasi, Zina, ne Yewusi, ne Beriya. Abo abana baali batabani ba Simeeyi. 13C1H023.011 And Jahath was the chief, and Zizah the second: but Jeush and Beriah had not many sons; therefore they were in one reckoning, according to their father's house. %%% Ne Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali ow'okubiri: naye Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi; kyebaava babalirwa awamu okuba ennyumba ya bakitaabwe. 13C1H023.012 The sons of Kohath; Amram, Izhar, Hebron, and Uzziel, four. %%% Batabani ba Kokasi; Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri, bana. 13C1H023.013 The sons of Amram; Aaron and Moses: and Aaron was separated, that he should sanctify the most holy things, he and his sons for ever, to burn incense before the LORD, to minister unto him, and to bless in his name for ever. %%% Batabani ba Amulaamu; Alooni ne Musa: Alooni n'ayawulibwa atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, ye ne batabani be emirembe gyonna, okwoterezanga obubaane mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna. 13C1H023.014 Now concerning Moses the man of God, his sons were named of the tribe of Levi. %%% Naye Musa omusajja wa Katonda; batabani be baayatulwa mu kika kya Leevi. 13C1H023.015 The sons of Moses were, Gershom, and Eliezer. %%% Batabani ba Musa; Gerusomu ne Eryeza. 13C1H023.016 Of the sons of Gershom, Shebuel was the chief. %%% Batabani ba Gerusomu; Sebweri omukulu. 13C1H023.017 And the sons of Eliezer were, Rehabiah the chief. And Eliezer had none other sons; but the sons of Rehabiah were very many. %%% Ne batabani ba Eryeza be bano, Lekabiya omukulu. Eryeza n'ataba na baana balala ba bulenzi; naye batabani ba Lekabiya ne baba bangi nnyo. 13C1H023.018 Of the sons of Izhar; Shelomith the chief. %%% Batabani ba Izukali; Seromisi omukulu 13C1H023.019 Of the sons of Hebron; Jeriah the first, Amariah the second, Jahaziel the third, and Jekameam the fourth. %%% Batabani ba Kebbulooni; Yeriya omukulu, Amaliya ow'okubiri, Yakaziyeri ow'okusatu, ne Yekameyamu ow'okuna. 13C1H023.020 Of the sons of Uzziel; Micah the first, and Jesiah the second. %%% Batabani ba Wuziyeeri; Mikka omukulu, ne Issiya ow'okubiri. 13C1H023.021 The sons of Merari; Mahli, and Mushi. The sons of Mahli; Eleazar, and Kish. %%% Batabani ba Merali; Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli; Eriyazaali ne Kiisi. 13C1H023.022 And Eleazar died, and had no sons, but daughters: and their brethren the sons of Kish took them. %%% Eriyazaali n'afa, nga talina baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala beereere: baganda baabwe batabani ba Kiisi ne babafumbirwa. 13C1H023.023 The sons of Mushi; Mahli, and Eder, and Jeremoth, three. %%% Batabani ba Musi; Makuli ne Ederi, ne Yeremosi, basatu. 13C1H023.024 These were the sons of Levi after the house of their fathers; even the chief of the fathers, as they were counted by number of names by their polls, that did the work for the service of the house of the LORD, from the age of twenty years and upward. %%% Abo be baali batabani ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abo abaabalibwa ku bo mu muwendo gw'amannya ng'emitwe gyabwe bwe gyali, abaakola omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo. 13C1H023.025 For David said, The LORD God of Israel hath given rest unto his people, that they may dwell in Jerusalem for ever: %%% Kubanga Dawudi yayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri awadde abantu be emirembe; era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna: 13C1H023.026 And also unto the Levites; they shall no more carry the tabernacle, nor any vessels of it for the service thereof. %%% era Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema n'ebintu byonna ebyako olw'okuweerezanga kwayo. 13C1H023.027 For by the last words of David the Levites were numbered from twenty years old and above: %%% Kubanga olw'ebigambo bya Dawudi eby'enkomerero abaana ba Leevi kyebaava babalibwa, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo. 13C1H023.028 Because their office was to wait on the sons of Aaron for the service of the house of the LORD, in the courts, and in the chambers, and in the purifying of all holy things, and the work of the service of the house of God; %%% Kubanga omulimu gwabwe kuweerezanga batabani ba Alooni olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, gwe mulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; 13C1H023.029 Both for the shewbread, and for the fine flour for meat offering, and for the unleavened cakes, and for that which is baked in the pan, and for that which is fried, and for all manner of measure and size; %%% era n'olw'emigaati egy'okulaga n'olw'obutta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, oba migaati gya mpewere egitazimbulukuswa oba ekyo ekisiikibwa ku kikalango, oba ekyo ekinnyikibwa, n'olw'engeri zonna ekigero bwe kyenkana n'obunene bwe bwenkana; 13C1H023.030 And to stand every morning to thank and praise the LORD, and likewise at even; %%% n'okuyimiriranga buli nkya okwebazanga n'okutenderezanga Mukama, era bwe batyo akawungeezi; 13C1H023.031 And to offer all burnt sacrifices unto the LORD in the sabbaths, in the new moons, and on the set feasts, by number, according to the order commanded unto them, continually before the LORD: %%% n'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa byonna eri Mukama, ku ssabbiiti, n'emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo, omuwendo gwabyo ng'ekiragiro kyabyo bwe kiri, obutayosanga mu maaso ga Mukama: 13C1H023.032 And that they should keep the charge of the tabernacle of the congregation, and the charge of the holy place, and the charge of the sons of Aaron their brethren, in the service of the house of the LORD. %%% era bakuumenga eweema ey'okusisinkanirangamu gye baateresebwa, n'ekifo ekitukuvu kye baateresebwa, n'ebyo batabani ba Alooni baganda baabwe bye baateresebwa, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama. 13C1H024.001 Now these are the divisions of the sons of Aaron. The sons of Aaron; Nadab, and Abihu, Eleazar, and Ithamar. %%% N'empalo za batabani ba Alooni zaali zino. Batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 13C1H024.002 But Nadab and Abihu died before their father, and had no children: therefore Eleazar and Ithamar executed the priest's office. %%% Naye Nadabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana: Eriyazaali ne Isamaali kyebaava bakola omulimu ogw'obwakabona. 13C1H024.003 And David distributed them, both Zadok of the sons of Eleazar, and Ahimelech of the sons of Ithamar, according to their offices in their service. %%% Dawudi wamu ne Zadoki ow'oku batabani ba Eriyazaali ne Akimereki ow'oku batabani ba Isamaali ne babasalamu ng'ebisanja byabwe bwe byali mu kuweereza kwabwe. 13C1H024.004 And there were more chief men found of the sons of Eleazar than of the sons of Ithamar; and thus were they divided. Among the sons of Eleazar there were sixteen chief men of the house of their fathers, and eight among the sons of Ithamar according to the house of their fathers. %%% Awo ne walabika abasajja abakulu ku batabani ba Eriyazaali bangi okusinga ab'oku batabani ba Isamaali; era bwe bati bwe baasalibwamu: ku batabani ba Eriyazaali kwaliko kkumi na mukaaga, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, munaana. 13C1H024.005 Thus were they divided by lot, one sort with another; for the governors of the sanctuary, and governors of the house of God, were of the sons of Eleazar, and of the sons of Ithamar. %%% Bwe bati bwe baasalibwamu na bululu, emitindo gyonna wamu; kubanga waaliwo abakulu ab'omu kifo ekitukuvu n'abakulu ba Katonda, ku batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali. 13C1H024.006 And Shemaiah the son of Nethaneel the scribe, one of the Levites, wrote them before the king, and the princes, and Zadok the priest, and Ahimelech the son of Abiathar, and before the chief of the fathers of the priests and Levites: one principal household being taken for Eleazar, and one taken for Ithamar. %%% Awo Semaaya mutabani wa Nesaneri omuwandiisi ow'oku Baleevi, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka b'abakulu ne Zadoki kabona ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; ennyumba emu eya bakitaabwe ng'eronderwa Eriyazaali, n'endala ng'eronderwa Isamaali. 13C1H024.007 Now the first lot came forth to Jehoiarib, the second to Jedaiah, %%% Awo akaluIu ak'olubereberye ne kamugwako Yekoyalibu, ak'okubiri Yedaya; 13C1H024.008 The third to Harim, the fourth to Seorim, %%% ak'okusatu Kalimu, ak'okuna Seyolimu; 13C1H024.009 The fifth to Malchijah, the sixth to Mijamin, %%% ak'okutaano Malukiya; ak'omukaaga Miyamini; 13C1H024.010 The seventh to Hakkoz, the eighth to Abijah, %%% ak'omusanvu Kakkozi, ak'omunaana Abiya; 13C1H024.011 The ninth to Jeshuah, the tenth to Shecaniah, %%% ak'omwenda Yesuwa; ak'ekkumi Sekaniya; 13C1H024.012 The eleventh to Eliashib, the twelfth to Jakim, %%% ak'ekkumi n'akamu Eriyasibu, n'ak'ekkumi n'obubiri Yakimu; 13C1H024.013 The thirteenth to Huppah, the fourteenth to Jeshebeab, %%% ak'ekkumi n'obusatu Kuppa, ak'ekkumi n'obuna Yesebeyabu; 13C1H024.014 The fifteenth to Bilgah, the sixteenth to Immer, %%% ak'ekkumi n'obutaano Biruga, ak'ekkumi n'omukaaga Immeri; 13C1H024.015 The seventeenth to Hezir, the eighteenth to Aphses, %%% ak'ekkumi n'omusanvu Keziri, ak'ekkumi n'omunaana Kapizzezi; 13C1H024.016 The nineteenth to Pethahiah, the twentieth to Jehezekel, %%% ak'ekkumi n'omwenda Pesakiya, ak'amakumi abiri Yekezukeri; 13C1H024.017 The one and twentieth to Jachin, the two and twentieth to Gamul, %%% ak'abiri mu kamu Yakini, ak'abiri mu bubiri Gamuli; 13C1H024.018 The three and twentieth to Delaiah, the four and twentieth to Maaziah. %%% ak'abiri mu busatu Deraya, ak'abiri mu buna Maaziya. 13C1H024.019 These were the orderings of them in their service to come into the house of the LORD, according to their manner, under Aaron their father, as the LORD God of Israel had commanded him. %%% Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng'ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa mu mukono gwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yali amulagidde. 13C1H024.020 And the rest of the sons of Levi were these: Of the sons of Amram; Shubael: of the sons of Shubael; Jehdeiah. %%% Ne ku batabani ba Leevi abalala: ku batabani ba Amulaamu Subayeri; ku batabani ba Subayeri, Yedeya. 13C1H024.021 Concerning Rehabiah: of the sons of Rehabiah, the first was Isshiah. %%% Ku Lekabiya: ku batabani ba Lekabiya; Issiya omukulu. 13C1H024.022 Of the Izharites; Shelomoth: of the sons of Shelomoth; Jahath. %%% Ku Bayizukali, Seromosi; ku batabani ba Seromosi, Yakasi. 13C1H024.023 And the sons of Hebron; Jeriah the first, Amariah the second, Jahaziel the third, Jekameam the fourth. %%% Ne batabani ba Kebulooni; Yeriya omukulu, Amaliya ow'okubiri, Yakaziyeri ow'okusatu, Yekameyamu ow'okuna. 13C1H024.024 Of the sons of Uzziel; Michah: of the sons of Michah; Shamir. %%% Batabani ba Winziyeeri, Mikka; ku batabani ba Mikka, Samiri. 13C1H024.025 The brother of Michah was Isshiah: of the sons of Isshiah; Zechariah. %%% Muganda wa Mikka, Issiya: ku batabani ba Issiya, Zekkaliya. 13C1H024.026 The sons of Merari were Mahli and Mushi: the sons of Jaaziah; Beno. %%% Batabani ba Merali; Makuli ne Musi: batabani ba Yaaziya; Beno. 13C1H024.027 The sons of Merari by Jaaziah; Beno, and Shoham, and Zaccur, and Ibri. %%% Batabani ba Merali; ku Yaaziya, Beno ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli. 13C1H024.028 Of Mahli came Eleazar, who had no sons. %%% Ku Makuli; Eriyazaali, ataazaala baana ba bulenzi. 13C1H024.029 Concerning Kish: the son of Kish was Jerahmeel. %%% Ku kiisi; batabani ba Kiisi, Yerameeri. 13C1H024.030 The sons also of Mushi; Mahli, and Eder, and Jerimoth. These were the sons of the Levites after the house of their fathers. %%% Ne batabani ba Musi; Makuli ne Ederi, ne Yerimosi. Abo be baali batabani b'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali. 13C1H024.031 These likewise cast lots over against their brethren the sons of Aaron in the presence of David the king, and Zadok, and Ahimelech, and the chief of the fathers of the priests and Levites, even the principal fathers over against their younger brethren. %%% Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu nga baganda baabwe batabani ba Alooni mu maaso ga Dawudi kabaka, ne Zadoki ne Akimereki n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; (ennyumba) za bakitaabwe ez'omukulu okufaanana eza muganda we omuto. 13C1H025.001 Moreover David and the captains of the host separated to the service of the sons of Asaph, and of Heman, and of Jeduthun, who should prophesy with harps, with psalteries, and with cymbals: and the number of the workmen according to their service was: %%% Era nate Dawudi n'abaami b’eggye ne baawulira okuweereza okwo abamu ku batabani ba Asafu n'aba Kemani n'aba Yedusuni, ab'okulagula n'ennanga, n'entongooli, n'ebitaasa: n'omuwendo gwabo abaakola omulimu ng'okuweereza kwabwe bwe kwali gwali bwe guti: 13C1H025.002 Of the sons of Asaph; Zaccur, and Joseph, and Nethaniah, and Asarelah, the sons of Asaph under the hands of Asaph, which prophesied according to the order of the king. %%% ku batabani ba Asafu; Zakkuli ne Yusufu ne Nesaniya ne Asalera, batabani ba Asafu; wansi w'omukono gwa Asafu eyalagulanga ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali. 13C1H025.003 Of Jeduthun: the sons of Jeduthun; Gedaliah, and Zeri, and Jeshaiah, Hashabiah, and Mattithiah, six, under the hands of their father Jeduthun, who prophesied with a harp, to give thanks and to praise the LORD. %%% Ku Yedusuni: batabani ba Yedusuni; Gedaliya ne Zeri ne Yesaya ne Kasabiya ne Mattisiya, mukaaga; wansi w'emikono gya kitaabwe Yedusuni nga balina ennanga, abaalagulanga nga beebaza era nga batendereza Mukama. 13C1H025.004 Of Heman: the sons of Heman: Bukkiah, Mattaniah, Uzziel, Shebuel, and Jerimoth, Hananiah, Hanani, Eliathah, Giddalti, and Romamtiezer, Joshbekashah, Mallothi, Hothir, and Mahazioth: %%% Ku Kemani; batabani ba Kemani; Bukkiya, Mattaniya, Wuziyeeri, Sebuweri, ne Yerimoosi, Kananiya, Kanani, Eriyaasa, Giddaluti, ne Lomamutyezeri, Yosubekasa, Mallosi, Kosiri, Makaziyoosi: 13C1H025.005 All these were the sons of Heman the king's seer in the words of God, to lift up the horn. And God gave to Heman fourteen sons and three daughters. %%% abo bonna baali batabani ba Kemani omulabi wa kabaka mu bigambo bya Katonda, okuyimusanga ejjembe. Katonda n'awa Kemani abaana ab'obulenzi kkumi na bana n'ab'obuwala basatu. 13C1H025.006 All these were under the hands of their father for song in the house of the LORD, with cymbals, psalteries, and harps, for the service of the house of God, according to the king's order to Asaph, Jeduthun, and Heman. %%% Abo bonna baabanga wansi w'emikono gya kitaabwe okuyimbiranga mu nnyumba ya Mukama, n'ebitaasa, n'entongooli, n'ennanga, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; Asafu, Yedusuni, ne Kemani nga bali wansi w'ekiragiro kya kabaka. 13C1H025.007 So the number of them, with their brethren that were instructed in the songs of the LORD, even all that were cunning, was two hundred fourscore and eight. %%% N'omuwendo gwabo wamu ne baganda baabwe abaayigirizibwa akuyimbira Mukama, bonna abalina amagezi, gwali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. 13C1H025.008 And they cast lots, ward against ward, as well the small as the great, the teacher as the scholar. %%% Ne bakubira ebyo bye baateresebwa obululu bonna okwenkana, abato era n'abakulu, omuyigiriza era n'omuyigirizwa. 13C1H025.009 Now the first lot came forth for Asaph to Joseph: the second to Gedaliah, who with his brethren and sons were twelve: %%% Awo akalulu ak'olubereberye ne kamugwako Yusufu olwa Asafu: ak'okubiri Gedaliya; ye ne baganda be ne batabani be baali kkumi na babiri: 13C1H025.010 The third to Zaccur, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'okusatu Zakkuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.011 The fourth to Izri, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'okuna Izuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.012 The fifth to Nethaniah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'okutaano Nesaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.013 The sixth to Bukkiah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'omukaaga Bukkiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.014 The seventh to Jesharelah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'omusanvu Yesalera, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.015 The eighth to Jeshaiah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'omunaana Yesaya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.016 The ninth to Mattaniah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'omwenda Mattaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.017 The tenth to Shimei, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi Simeeyi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.018 The eleventh to Azareel, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'akamu Azaleeri, batabani be ne baganda be kkumi na babiri: 13C1H025.019 The twelfth to Hashabiah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'obubiri Kasabiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.020 The thirteenth to Shubael, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'obusatu, Subayeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri : 13C1H025.021 The fourteenth to Mattithiah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'obuna Mattisiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.022 The fifteenth to Jeremoth, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'obutaano Yeremoosi, batabani be be baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.023 The sixteenth to Hananiah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'omukaaga Kananiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.024 The seventeenth to Joshbekashah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'omusanvu Yosubekasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.025 The eighteenth to Hanani, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'omunaana Kanani, batabani be ne baganda be kkumi na babiri: 13C1H025.026 The nineteenth to Mallothi, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'ekkumi n'omwenda Mallosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.027 The twentieth to Eliathah, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'amakumi abiri Eriyaasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.028 The one and twentieth to Hothir, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'abiri mu kamu Kosiri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.029 The two and twentieth to Giddalti, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'abiri mu bubiri Giddaluti, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.030 The three and twentieth to Mahazioth, he, his sons, and his brethren, were twelve: %%% ak'abiri mu busatu Makaziyoosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13C1H025.031 The four and twentieth to Romamtiezer, he, his sons, and his brethren, were twelve. %%% ak'abiri mu buna Lomamutyezeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. 13C1H026.001 Concerning the divisions of the porters: Of the Korhites was Meshelemiah the son of Kore, of the sons of Asaph. %%% Olw'empalo z'abaggazi: ku Bakola; Meseremiya mutabani wa Kole, ku batabani ba Asafu. 13C1H026.002 And the sons of Meshelemiah were, Zechariah the firstborn, Jediael the second, Zebadiah the third, Jathniel the fourth, %%% Era Meseremiya yalina abaana ab'obulenzi; Zekkaliya omubereberye, Yediyayeri ow'okubiri, Zebadiya ow'okusatu, Yasuniyeri ow'okuna; 13C1H026.003 Elam the fifth, Jehohanan the sixth, Elioenai the seventh. %%% Eramu ow'okutaano, Yekokanani ow'omukaaga, Eriwenayi ow'omusanvu. 13C1H026.004 Moreover the sons of Obededom were, Shemaiah the firstborn, Jehozabad the second, Joah the third, and Sacar the fourth, and Nethaneel the fifth, %%% Era Obededomu yalina abaana ab'obulenzi; Semaaya omubereberye, Yekozabadi ow'okubiri, Yowa ow'okusatu, ne Sakali ow'okuna, ne Nesaneeri ow'okutaano; 13C1H026.005 Ammiel the sixth, Issachar the seventh, Peulthai the eighth: for God blessed him. %%% Ammiyeri ow'omukaaga, Isakaali ow'omusanvu, Pewulesayi ow'omunaana: kubanga Katonda n'amuwa omukisa. 13C1H026.006 Also unto Shemaiah his son were sons born, that ruled throughout the house of their father: for they were mighty men of valour. %%% Era Semaaya mutabani we n'azaalirwa abaana ab'obulenzi, abaafuga ennyumba ya kitaabwe: kubanga baali basajja ba maanyi abazira. 13C1H026.007 The sons of Shemaiah; Othni, and Rephael, and Obed, Elzabad, whose brethren were strong men, Elihu, and Semachiah. %%% Batabani ba Semaaya; Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi, ne Eruzabadi, baganda baabwe basajja bazira, Eriku, ne Semakiya. 13C1H026.008 All these of the sons of Obededom: they and their sons and their brethren, able men for strength for the service, were threescore and two of Obededom. %%% Abo bonna baali ba ku baana ba Obededomu: bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe; abasajja ab'amaanyi abaamala okuweereza okwo; amakumi asatu mu babiri ab'oku Obededomu. 13C1H026.009 And Meshelemiah had sons and brethren, strong men, eighteen. %%% Era Meseremiya yalina abaana n'ab'oluganda, abasajja abazira, kkumi na munaana. 13C1H026.010 Also Hosah, of the children of Merari, had sons; Simri the chief, (for though he was not the firstborn, yet his father made him the chief;) %%% Era Kosa ow'oku baana ba Merali yalina abaana; Simuli omukulu, (kubanga kitaawe yamufuula omukulu newakubadde nga si ye mubereberye;) 13C1H026.011 Hilkiah the second, Tebaliah the third, Zechariah the fourth: all the sons and brethren of Hosah were thirteen. %%% Kirukiya ow'okubiri, Tebaliya ow'okusatu, Zekkaliya ow'okuna: batabani ba Kosa bonna ne baganda be baali kkumi na basatu. 13C1H026.012 Among these were the divisions of the porters, even among the chief men, having wards one against another, to minister in the house of the LORD. %%% Empalo z'abaggazi zaali z'abo, za basajja bakulu, nga baliko bye bateresebwa nga baganda baabwe, okuweererezanga mu nnyumba ya Mukama. 13C1H026.013 And they cast lots, as well the small as the great, according to the house of their fathers, for every gate. %%% Ne bakuba obululu, abato era n'abakulu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali olwa buli mulyango. 13C1H026.014 And the lot eastward fell to Shelemiah. Then for Zechariah his son, a wise counsellor, they cast lots; and his lot came out northward. %%% Akalulu ak'ebuvanjuba ne kamugwako Seremiya. Awo ne bakubira obululu Zekkaliya mutabani we, omuteesa ow'amagezi; akalulu ke ne kamugwako ku bukiika obwa kkono. 13C1H026.015 To Obededom southward; and to his sons the house of Asuppim. %%% Obededomu ku bukiika obwa ddyo; ne batabani be (ne baweebwa) eggwanika. 13C1H026.016 To Shuppim and Hosah the lot came forth westward, with the gate Shallecheth, by the causeway of the going up, ward against ward. %%% Suppimu ne Kosa ebugwanjuba, awaali omulyango Salekesi awaali olutindo oluyambuka, abakuumi nga boolekera bakuumi bannaabwe. 13C1H026.017 Eastward were six Levites, northward four a day, southward four a day, and toward Asuppim two and two. %%% Abaleevi mukaaga baali ku luuyi olw'ebuvanjuba, ku bukiika obwa kkono buli lunaku bana, ku bukiika obwa ddyo buli lunaku bana, n'ab'eggwanika babiri babiri. 13C1H026.018 At Parbar westward, four at the causeway, and two at Parbar. %%% Aba Palubali ku luuyi olw'ebugwanjuba, awaali olutindo bana, ne ku Palubali babiri. 13C1H026.019 These are the divisions of the porters among the sons of Kore, and among the sons of Merari. %%% Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali. 13C1H026.020 And of the Levites, Ahijah was over the treasures of the house of God, and over the treasures of the dedicated things. %%% Ne ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w'amawanika g'ennyumba ya Katonda, era w'amawanika g'ebintu ebyawongebwa. 13C1H026.021 As concerning the sons of Laadan; the sons of the Gershonite Laadan, chief fathers, even of Laadan the Gershonite, were Jehieli. %%% Batabani ba Ladani; batabani b'Abagerusoni aba Ladani, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Ladani Omugerusoni; Yekyeri. 13C1H026.022 The sons of Jehieli; Zetham, and Joel his brother, which were over the treasures of the house of the LORD. %%% Batabani ba Yekyeri; Zesamu, ne Yoweeri muganda we, abakulu b'amawanika g'ennyumba ya Mukama. 13C1H026.023 Of the Amramites, and the Izharites, the Hebronites, and the Uzzielites: %%% Ku Baamulamu, ku Bayizukali, ku Bakebbulooni, ku Bawuziyeeri: 13C1H026.024 And Shebuel the son of Gershom, the son of Moses, was ruler of the treasures. %%% ne Sebweri mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omukulu w'amawanika. 13C1H026.025 And his brethren by Eliezer; Rehabiah his son, and Jeshaiah his son, and Joram his son, and Zichri his son, and Shelomith his son. %%% Ne baganda be; ku Eryeza ne kuva Lekabiya mutabani we, ne Yesaya mutabani we, ne Yolaamu mutabani we, ne Zikuli mutabani we, ne Seromosi mutabani we. 13C1H026.026 Which Shelomith and his brethren were over all the treasures of the dedicated things, which David the king, and the chief fathers, the captains over thousands and hundreds, and the captains of the host, had dedicated. %%% Seromosi oyo ne baganda be be baali abakulu b'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa, Dawudi kabaka n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abaami b'enkumi n'ebikumi, n'abaami b'eggye, bye baawonga. 13C1H026.027 Out of the spoils won in battles did they dedicate to maintain the house of the LORD. %%% Ku munyago gwe baanyaga mu ntalo kwe baggya okuwonga okuddaabiriza ennyumba ya Mukama. 13C1H026.028 And all that Samuel the seer, and Saul the son of Kish, and Abner the son of Ner, and Joab the son of Zeruiah, had dedicated; and whosoever had dedicated any thing, it was under the hand of Shelomith, and of his brethren. %%% Ne byonna Samwiri nabbi ne Sawulo mutabani wa Kiisi ne Abuneeri mutabani wa Neeri ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya bye baawonga; buli muntu yenna eyawonga ekintu kyonna, kyabanga wansi w'omukono gwa Seromosi ne baganda be. 13C1H026.029 Of the Izharites, Chenaniah and his sons were for the outward business over Israel, for officers and judges. %%% Ku Bayizukali, Kenaniya ne batabani be baafuganga Isiraeri olw'omulimu ogw'ebweru, okuba abaami n'abalamuzi. 13C1H026.030 And of the Hebronites, Hashabiah and his brethren, men of valour, a thousand and seven hundred, were officers among them of Israel on this side Jordan westward in all the business of the LORD, and in the service of the king. %%% Ku Bakebbulooni, Kasabiya ne baganda be, abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, be baalabiriranga Isiraeri emitala wa Yoludaani ebugwanjuba; olw'omulimu gwonna ogwa Mukama n'olw'okuweereza kabaka. 13C1H026.031 Among the Hebronites was Jerijah the chief, even among the Hebronites, according to the generations of his fathers. In the fortieth year of the reign of David they were sought for, and there were found among them mighty men of valour at Jazer of Gilead. %%% Yeriya yali mukulu ku Bakebbulooni, ku Bakebbulooni kwe yali, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu (nnyumba) za bakitaabwe. Mu mwaka ogw'ana Dawudi kasookedde alya obwakabaka ne banoonyezebwa, ne mulabika mu bo abasajja ab'amaanyi abazira e Yazeri eky'e Gireyaadi. 13C1H026.032 And his brethren, men of valour, were two thousand and seven hundred chief fathers, whom king David made rulers over the Reubenites, the Gadites, and the half tribe of Manasseh, for every matter pertaining to God, and affairs of the king. %%% Ne baganda be abasajja abazira baali enkumi bbiri mu lusanvu, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, kabaka Dawudi be yafuula abalabirizi b'Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika eky'Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n'olw'ebigambo bya kabaka. 13C1H027.001 Now the children of Israel after their number, to wit, the chief fathers and captains of thousands and hundreds, and their officers that served the king in any matter of the courses, which came in and went out month by month throughout all the months of the year, of every course were twenty and four thousand. %%% Awo abaana ba Isiraeri ng'omuwendo gwabwe bwe gwali, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka mu buli kigambo eky'empalo ezaayingiranga ne zifulumanga buli mwezi okumala emyezi gyonna egy'omwaka, aba buli luwalo baali obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.002 Over the first course for the first month was Jashobeam the son of Zabdiel: and in his course were twenty and four thousand. %%% Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yali omukulu w'oluwalo olw'olubereberye olw'omu mwezi ogw'olubereberye: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.003 Of the children of Perez was the chief of all the captains of the host for the first month. %%% Oyo yali wa ku baana ba Pereezi, omukulu w'abaami bonna ab'eggye mu mwezi ogw'olubereberye. 13C1H027.004 And over the course of the second month was Dodai an Ahohite, and of his course was Mikloth also the ruler: in his course likewise were twenty and four thousand. %%% Ne Dodayi Omwakowa n'oluwalo lwe ye yali omukulu w'oluwalo olw'omwezi ogw'okubiri; ne Mikuloosi omukungu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.005 The third captain of the host for the third month was Benaiah the son of Jehoiada, a chief priest: and in his course were twenty and four thousand. %%% Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye ow'omu mwezi ogw'okusatu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.006 This is that Benaiah, who was mighty among the thirty, and above the thirty: and in his course was Ammizabad his son. %%% Ono ye Benaya oyo eyali omusajja ow'amaanyi ow'oku abo amakumi asatu, era omukulu w'abo amakumi asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa ku luwalo lwe. 13C1H027.007 The fourth captain for the fourth month was Asahel the brother of Joab, and Zebadiah his son after him: and in his course were twenty and four thousand. %%% Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omwami ow'okuna ow'omu mwezi ogw'okuna, ne Zebadiya mutabani we oluvannyuma lwe: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.008 The fifth captain for the fifth month was Shamhuth the Izrahite: and in his course were twenty and four thousand. %%% Samukusi Omuyizula ye yali omwami ow'okutaano ow'omu mwezi ogw'okutaano: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.009 The sixth captain for the sixth month was Ira the son of Ikkesh the Tekoite: and in his course were twenty and four thousand. %%% Ira mutabani wa Ikesi Omutekowa ye yali omwami ow'omukaaga ow'omu mwezi ogw'omukaaga: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.010 The seventh captain for the seventh month was Helez the Pelonite, of the children of Ephraim: and in his course were twenty and four thousand. %%% Kerezi Omuperoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow'omusanvu ow'omu mwezi ogw'omusanvu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.011 The eighth captain for the eighth month was Sibbecai the Hushathite, of the Zarhites: and in his course were twenty and four thousand. %%% Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera ye yali omwami ow'omunaana ow'omu mwezi ogw'omunaana: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.012 The ninth captain for the ninth month was Abiezer the Anetothite, of the Benjamites: and in his course were twenty and four thousand. %%% Abiyezeeri Omwanasosi ow'oku Babenyamini ye yali omwami ow'omwenda ow'omu mwezi ogw'omwenda: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumii bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.013 The tenth captain for the tenth month was Maharai the Netophathite, of the Zarhites: and in his course were twenty and four thousand. %%% Makalayi Omunetofa ow'oku Bazera ye yali omwami ow'ekkumi ow'omu mwezi ogw'ekkumi: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.014 The eleventh captain for the eleventh month was Benaiah the Pirathonite, of the children of Ephraim: and in his course were twenty and four thousand. %%% Benaya Omupirasoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow'ekkumi n'omu ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu: ne mu luwalo lwe mwalimu' obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.015 The twelfth captain for the twelfth month was Heldai the Netophathite, of Othniel: and in his course were twenty and four thousand. %%% Kerudayi Omunetofa, owa Osunieri, ye yali omwami ow'ekkumi n'ababiri ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri; ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 13C1H027.016 Furthermore over the tribes of Israel: the ruler of the Reubenites was Eliezer the son of Zichri: of the Simeonites, Shephatiah the son of Maachah: %%% Nate abaafuga ebika bya Isiraeri: ku Balewubeeni Eryeza mutabani wa Zikuli afuga: ku Basimyoni Sefatiya mutabani wa Maaka: 13C1H027.017 Of the Levites, Hashabiah the son of Kemuel: of the Aaronites, Zadok: %%% ku Leevi Kasabiya mutabani wa Kemweri: ku Alooni Zadoki: 13C1H027.018 Of Judah, Elihu, one of the brethren of David: of Issachar, Omri the son of Michael: %%% ku Yuda Eriku, omu ku baganda ba Dawudi: ku Isakaali Omuli mutabani wa Mikayiri; 13C1H027.019 Of Zebulun, Ishmaiah the son of Obadiah: of Naphtali, Jerimoth the son of Azriel: %%% ku Zebbulooni Isumaaya mutabani wa Obadiya: ku Nafutaali Yeremosi mutabani wa Azutiyeeri: 13C1H027.020 Of the children of Ephraim, Hoshea the son of Azaziah: of the half tribe of Manasseh, Joel the son of Pedaiah: %%% ku baana ba Efulayimu Koseya mutabani wa Azaziya: ku kitundu ky'ekika kya Manase Yoweeri mutabani wa Pedaya: 13C1H027.021 Of the half tribe of Manasseh in Gilead, Iddo the son of Zechariah: of Benjamin, Jaasiel the son of Abner: %%% ku kitundu ky'ekika kya Manase mu Gireyaadi Iddo mutabani wa Zekkaliya; ku Benyamini Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri: 13C1H027.022 Of Dan, Azareel the son of Jeroham. These were the princes of the tribes of Israel. %%% ku Ddaani Azaleeri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abaami b'ebika bya Isiraeri. 13C1H027.023 But David took not the number of them from twenty years old and under: because the LORD had said he would increase Israel like to the stars of the heavens. %%% Naye Dawudi n'atabala muwendo gwabo abaakamaze emyaka amakumi abiri n'abatannaba kutuusa egyo, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, 13C1H027.024 Joab the son of Zeruiah began to number, but he finished not, because there fell wrath for it against Israel; neither was the number put in the account of the chronicles of king David. %%% Yowaabu mutabani vva Zeruyiya yatanula okubala, naye n'atamaliriza: obusungu kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya kabaka Dawudi. 13C1H027.025 And over the king's treasures was Azmaveth the son of Adiel: and over the storehouses in the fields, in the cities, and in the villages, and in the castles, was Jehonathan the son of Uzziah: %%% Era Azumaveesi mutabani wa Adyeri yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya yali mukulu wa mawanika ag'oku ttale n'ag'omu bibuga n'ag'omu byalo n'agomu bigo: 13C1H027.026 And over them that did the work of the field for tillage of the ground was Ezri the son of Chelub: %%% ne Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakola emirimu egy'omu nnimiro olw'okulima ettaka: 13C1H027.027 And over the vineyards was Shimei the Ramathite: over the increase of the vineyards for the wine cellars was Zabdi the Shiphmite: %%% ne Simeeyi Omulaama ye yali omukulu w'ensuku z'emizabbibu: ne Zabudi Omusifumu ye yali omukulu w'ebibala eby'ensuku olw'amasenero ag'omwenge: 13C1H027.028 And over the olive trees and the sycomore trees that were in the low plains was Baalhanan the Gederite: and over the cellars of oil was Joash: %%% ne Baalukanani Omugedera ye yali omukulu w'emizeyituuni n'emisukomooli egyali mu nsenyi: ne Yowaasi ye yali omukulu w'amawanika g'amafuta: 13C1H027.029 And over the herds that fed in Sharon was Shitrai the Sharonite: and over the herds that were in the valleys was Shaphat the son of Adlai: %%% ne Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu: 13C1H027.030 Over the camels also was Obil the Ishmaelite: and over the asses was Jehdeiah the Meronothite: %%% ne Obiri Omuyisimaeri ye yali omukulu w'eŋŋamira: ne Yedeya Omumeronoosi ye yali omukulu w'endogoyi: 13C1H027.031 And over the flocks was Jaziz the Hagerite. All these were the rulers of the substance which was king David's. %%% ne Yazizi Omukaguli ye yali omukulu w'embuzi. Abo bonna be baali abakulu b'ebintu ebya kabaka Dawudi. 13C1H027.032 Also Jonathan David's uncle was a counsellor, a wise man, and a scribe: and Jehiel the son of Hachmoni was with the king's sons: %%% Ne Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, omusajja omutegeevu era omuwandiisi: ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni yabanga wamu n'abaana ba kabaka: 13C1H027.033 And Ahithophel was the king's counsellor: and Hushai the Archite was the king's companion: %%% ne Akisoferi ye yateesanga ebigambo bya kabaka: Kusaayi Omwaluki ye yali mukwano gwa kabaka: 13C1H027.034 And after Ahithophel was Jehoiada the son of Benaiah, and Abiathar: and the general of the king's army was Joab. %%% Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omwami w'eggye lya kabaka. 13C1H028.001 And David assembled all the princes of Israel, the princes of the tribes, and the captains of the companies that ministered to the king by course, and the captains over the thousands, and captains over the hundreds, and the stewards over all the substance and possession of the king, and of his sons, with the officers, and with the mighty men, and with all the valiant men, unto Jerusalem. %%% Dawudi n'akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isiraeri, abakungu b'ebika n'abaami b'ebitongole abaaweerezanga kabaka mu mpalo, n'abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi n'abakulu b'ebintu byonna n'obugagga ebya kabaka ne batabani be, wamu n'abaami n'abasajja ab'amaanyi, abasajja bonna ab'amaanyi abazira, e Yerusaalemi. 13C1H028.002 Then David the king stood up upon his feet, and said, Hear me, my brethren, and my people: As for me, I had in mine heart to build an house of rest for the ark of the covenant of the LORD, and for the footstool of our God, and had made ready for the building: %%% Awo Dawudi kabaka n'ayimirira ku bigere bye n'ayogera nti Mumpulire, baganda bange era abantu bange: nze kyali mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'entebe y'ebigere eya Katonda waffe ennyumba ey'okuwummuliramu; era nali ntegese okuzimba. 13C1H028.003 But God said unto me, Thou shalt not build an house for my name, because thou hast been a man of war, and hast shed blood. %%% Naye Katonda n'aŋŋamba nti Tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga ggwe oli musajja wa ntalo, era wayiwa omusaayi. 13C1H028.004 Howbeit the LORD God of Israel chose me before all the house of my father to be king over Israel for ever: for he hath chosen Judah to be the ruler; and of the house of Judah, the house of my father; and among the sons of my father he liked me to make me king over all Israel: %%% Naye Mukama Katonda wa Isiraeri yannonda ng'anziya mu nnyumba yonna eya kitange okuba kabaka wa Isiraeri emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okuba omulangira; ne mu nnyumba ya Yuda n'alondamu ennyumba ya kitange; ne mu baana ba kitange n'ansanyukira nze okunfuula kabaka wa Isiraeri yenna: 13C1H028.005 And of all my sons, (for the LORD hath given me many sons,) he hath chosen Solomon my son to sit upon the throne of the kingdom of the LORD over Israel. %%% ne ku batabani bange bonna (kubanga Mukama ampadde abaana bangi) n'alondamu Sulemaani mutabani wange okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Mukama okufuga Isiraeri. 13C1H028.006 And he said unto me, Solomon thy son, he shall build my house and my courts: for I have chosen him to be my son, and I will be his father. %%% N'aŋŋamba nti Sulemaani mutabani wo ye alizimba ennyumba yange n'empya zange: kubanga namulonda okuba mutabani wange, nange naabanga kitaawe. 13C1H028.007 Moreover I will establish his kingdom for ever, if he be constant to do my commandments and my judgments, as at this day. %%% Era naanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyiikiranga okukola ebiragiro byange n'emisango gyange nga leero. 13C1H028.008 Now therefore in the sight of all Israel the congregation of the LORD, and in the audience of our God, keep and seek for all the commandments of the LORD your God: that ye may possess this good land, and leave it for an inheritance for your children after you for ever. %%% Kale nno mu maaso ga Isiraeri yenna, ekkuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng'awulira, mukwatenga munoonyenga ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda wammwe: mulye ensi eno ennungi mugirekere abaana bammwe okubala obusika emirembe gyonna abanaabangawo oluvannyuma lwammwe. 13C1H028.009 And thou, Solomon my son, know thou the God of thy father, and serve him with a perfect heart and with a willing mind: for the LORD searcheth all hearts, and understandeth all the imaginations of the thoughts: if thou seek him, he will be found of thee; but if thou forsake him, he will cast thee off for ever. %%% Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima ogutuukiridde n'emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw'ebirowoozo: bw'onoomunoonyanga, anaalabikanga gy'oli; naye bw'onoomuvangako, anaakugobanga emirembe gyonna. 13C1H028.010 Take heed now; for the LORD hath chosen thee to build an house for the sanctuary: be strong, and do it. %%% Weekuume nno; kubanga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'ekiggwa: ba n'amaanyi, okikolanga. 13C1H028.011 Then David gave to Solomon his son the pattern of the porch, and of the houses thereof, and of the treasuries thereof, and of the upper chambers thereof, and of the inner parlours thereof, and of the place of the mercy seat, %%% Awo Dawudi n'awa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky'ekisasi kya yeekaalu n'ennyumba zaako n'amawanika gaako n'enju zaako eza waggulu n'ebisenge byako eby'omunda n'ekifo eky'entebe ey'okusaasira; 13C1H028.012 And the pattern of all that he had by the spirit, of the courts of the house of the LORD, and of all the chambers round about, of the treasuries of the house of God, and of the treasuries of the dedicated things: %%% n'ekyokulabirako ekya byonna bye yalina olw'omwoyo, eby'empya ez'ennyumba ya Mukama n'ebisenge byonna ebyetoolodde n'amawanika g'ennyumba ya Katonda n'amawanika g'ebintu ebiwongebwa: 13C1H028.013 Also for the courses of the priests and the Levites, and for all the work of the service of the house of the LORD, and for all the vessels of service in the house of the LORD. %%% era eby'empalo za bakabona n'Abaleevi n'eby'omulimu gwonna ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, n'eby'ebintu byonna ebiweereza mu nnyumba ya Mukama: 13C1H028.014 He gave of gold by weight for things of gold, for all instruments of all manner of service; silver also for all instruments of silver by weight, for all instruments of every kind of service: %%% zaabu epimibwa olw'ebintu ebya zaabu, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna; ffeeza epimibwa olw'ebintu byonna ebya ffeeza, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna: 13C1H028.015 Even the weight for the candlesticks of gold, and for their lamps of gold, by weight for every candlestick, and for the lamps thereof: and for the candlesticks of silver by weight, both for the candlestick, and also for the lamps thereof, according to the use of every candlestick. %%% era eby'ettabaaza eza zaabu ebipimibwa, n'eby'ettabaaza zaakyo, zaabu epimibwa ya buli kikondo era ya etabaaza zaakyo: era ya bikondo ebya ffeeza, ffeeza epimibwa ya buli kikondo era ya ttabaaza zaakyo, ng'okuweereza okwa buli kikondo: 13C1H028.016 And by weight he gave gold for the tables of shewbread, for every table; and likewise silver for the tables of silver: %%% ne zaabu eyapimibwa ey'emmeeza ez'emigaati egy'okulaga, eya buli mmeeza; ne ffeeza ey'emmeeza ez'effeeza: 13C1H028.017 Also pure gold for the fleshhooks, and the bowls, and the cups: and for the golden basons he gave gold by weight for every bason; and likewise silver by weight for every bason of silver: %%% n'eby'okukwasa ennyama n'ebibya n'ebikompe bya zaabu ennungi: era ya bbakuli za zaabu, zaabu eyapimibwa eya buli bbakuli: era ya bbakuli eza ffeeza, ffeeza eyapimibwa eya buli bbakuli: 13C1H028.018 And for the altar of incense refined gold by weight; and gold for the pattern of the chariot of the cherubims, that spread out their wings, and covered the ark of the covenant of the LORD. %%% era ey'ekyoto eky'obubaane, zaabu ennongoofu eyapimibwa; era zaabu ya kyakulabirako eky'eggaali, be bakerubi abayanjala ebiwawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey'endagaano ya Mukama. 13C1H028.019 All this, said David, the LORD made me understand in writing by his hand upon me, even all the works of this pattern. %%% Ebyo byonna, bwe yayogera Dawudi, nabitegeezebwa mu biwandiike ebiva eri omukono gwa Mukama, gye mirimu gyonna egy'omutindo guno. 13C1H028.020 And David said to Solomon his son, Be strong and of good courage, and do it: fear not, nor be dismayed: for the LORD God, even my God, will be with thee; he will not fail thee, nor forsake thee, until thou hast finished all the work for the service of the house of the LORD. %%% Dawudi n'agamba Sulemaatu mutabani we nti Ba n'amaanyi ogume omwoyo, okikolenga: totyanga so totekemukanga: kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe: taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira. 13C1H028.021 And, behold, the courses of the priests and the Levites, even they shall be with thee for all the service of the house of God: and there shall be with thee for all manner of workmanship every willing skilful man, for any manner of service: also the princes and all the people will be wholly at thy commandment. %%% Era, laba, waliwo empalo za bakabona n'Abaleevi olw'okuweereza kwonna okw'omu nnyumba ya Katonda: era waliba naawe mu mulimu ogw'engeri zonna buli musajja ayagala ku bubwe alina amagezi ag'okuweereza kwonna: era n'abaami n'abantu bonna banaagondereranga ddala okulagira kwo. 13C1H029.001 Furthermore David the king said unto all the congregation, Solomon my son, whom alone God hath chosen, is yet young and tender, and the work is great: for the palace is not for man, but for the LORD God. %%% Dawudi kabaka n'agamba ekibiina kyonna nti Sulemaani mutabani wange Katonda gw'alonze yekka akyali mwana muto, n'omulimu munene: kubanga eriyumba si lya bantu naye lya Mukama Katonda. 13C1H029.002 Now I have prepared with all my might for the house of my God the gold for things to be made of gold, and the silver for things of silver, and the brass for things of brass, the iron for things of iron, and wood for things of wood; onyx stones, and stones to be set, glistering stones, and of divers colours, and all manner of precious stones, and marble stones in abundance. %%% Nze nno ntegekedde ennyumba ya Katonda wange n'amaanyi gange gonna zaabu (ey'ebintu) ebya zaabu, ne ffeeza ey'ebintu ebya ffeeza, n'ebikomo eby'ebintu eby'ebikomo, ebyuma eby'ebintu eby'ebyuma, n'emiti egy'ebintu eby'emiti; amayinja aga onuku n'amayinja ag'okutona, amayinja ag'omulimu ogw'enjola n'ag'amabala mangi, n'amayinja ag'omuwendo omungi ag'engeri zonna, n'amayinja amanyirivu mangi nnyo. 13C1H029.003 Moreover, because I have set my affection to the house of my God, I have of mine own proper good, of gold and silver, which I have given to the house of my God, over and above all that I have prepared for the holy house, %%% Era nate kubanga ntadde okwagala kwange ku nnyumba ya Katonda wange, kubanga nnina obugagga bwange ku bwange obwa zaabu ne ffeeza, mbuwa ennyumba ya Katonda wange, okusukkiriza byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu; 13C1H029.004 Even three thousand talents of gold, of the gold of Ophir, and seven thousand talents of refined silver, to overlay the walls of the houses withal: %%% talanta eza zaabu enkumi ssatu, zaabu ya Ofiri, ne talanta eza ffeeza eyalongoosebwa kasanvu, okugibissa ku bisenge by'ennyumba nayo: 13C1H029.005 The gold for things of gold, and the silver for things of silver, and for all manner of work to be made by the hands of artificers. And who then is willing to consecrate his service this day unto the LORD? %%% zaabu ya bintu ebya zaabu, ne ffeeza ya bintu ebya ffeeza, n'olw'emirimu egy'engeri zonna egirikolebwa n'emikono gy'abafundi. Kale ani awaayo ku bubwe okwewonga leero eri Mukama? 13C1H029.006 Then the chief of the fathers and princes of the tribes of Israel, and the captains of thousands and of hundreds, with the rulers of the king's work, offered willingly, %%% Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe n'abakulu b'ebika bya Isiraeri n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi wamu n'abalabirizi b'emirimu gya kabaka, ne bawaayo ku bwabwe; 13C1H029.007 And gave for the service of the house of God of gold five thousand talents and ten thousand drams, and of silver ten thousand talents, and of brass eighteen thousand talents, and one hundred thousand talents of iron. %%% ne bawa olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda, zaabu talanta enkumi ttaano ne daliki kakumi, ne ffeeza talanta kakumi, n'ebikomo talanta kakumi mu kanaana, n'ebyuma talanta kasiriivu. 13C1H029.008 And they with whom precious stones were found gave them to the treasure of the house of the LORD, by the hand of Jehiel the Gershonite. %%% N'abo abaalabika nga balina amayinja ag'omuwendo omungi ne bagawa eri obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa Yekyeri Omugerusoni. 13C1H029.009 Then the people rejoiced, for that they offered willingly, because with perfect heart they offered willingly to the LORD: and David the king also rejoiced with great joy. %%% Awo abantu ne basanyuka kubanga baawaayo ku bwabwe, kubanga baawaayo ku bwabwe eri Mukama n'omutima ogutuukiridde: era ne Dawudi kabaka n'asanyuka essanyu ddene. 13C1H029.010 Wherefore David blessed the LORD before all the congregation: and David said, Blessed be thou, LORD God of Israel our father, for ever and ever. %%% Dawudi kyeyava yeebaliza Mukama mu maaso g'ekibiina kyonna: Dawudi n'ayogera nti Weebazibwe, ai Mukama, Katonda wa Isiraeri jjajjaffe, emirembe n'emirembe. 13C1H029.011 Thine, O LORD, is the greatness, and the power, and the glory, and the victory, and the majesty: for all that is in the heaven and in the earth is thine; thine is the kingdom, O LORD, and thou art exalted as head above all. %%% Obukulu bubwo n'amaanyi n'ekitiibwa n'okuwangula n'okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi (bibyo); obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna. 13C1H029.012 Both riches and honour come of thee, and thou reignest over all; and in thine hand is power and might; and in thine hand it is to make great, and to give strength unto all. %%% Obugagga era n'ekitiibwa biva gyoli, era ggwe ofuga bonna; era mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi; era mu mukono gwo mwe muli okukuza n'okuwa bonna amaanyi. 13C1H029.013 Now therefore, our God, we thank thee, and praise thy glorious name. %%% Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo ery'ekitiibwa. 13C1H029.014 But who am I, and what is my people, that we should be able to offer so willingly after this sort? for all things come of thee, and of thine own have we given thee. %%% Naye nze ani n'abantu bange kye ki, ffe okuyinza okuwaayo bwe tutyo ku bwaffe ddala? kubanga byonna biva gyoli, era tukuwadde ku bibyo. 13C1H029.015 For we are strangers before thee, and sojourners, as were all our fathers: our days on the earth are as a shadow, and there is none abiding. %%% Kubanga ffe tuli bagenyi mu maaso go era batambuze nga bajjajjaffe bonna bwe baali: ennaku zaffe ez'oku nsi ziri ng'ekisiikirize, so tewali kubeerera. 13C1H029.016 O LORD our God, all this store that we have prepared to build thee an house for thine holy name cometh of thine hand, and is all thine own. %%% Ai Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira ennyumba olw'erinnya lyo ettukuvu biva mu mukono gwo, era byonna bibyo. 13C1H029.017 I know also, my God, that thou triest the heart, and hast pleasure in uprightness. As for me, in the uprightness of mine heart I have willingly offered all these things: and now have I seen with joy thy people, which are present here, to offer willingly unto thee. %%% Era mmanyi, Katonda wange, nga ggwe okema omutima era osanyukira amazima. Nze, nga nnina omutima ogw'amazima, mpaddeyo ku bwange bino byonna: era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo ku bwabwe gyoli ne nsanyuka. 13C1H029.018 O LORD God of Abraham, Isaac, and of Israel, our fathers, keep this for ever in the imagination of the thoughts of the heart of thy people, and prepare their heart unto thee: %%% Ai Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Isiraeri, bajjajjaffe, onyweze kino mu kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gw'abantu bo, oteeketeeke omutima gwabwe gyoli: 13C1H029.019 And give unto Solomon my son a perfect heart, to keep thy commandments, thy testimonies, and thy statutes, and to do all these things, and to build the palace, for the which I have made provision. %%% era owe Sulemaani mutabani wange omutima ogutuukiridde okukwata ebiragiro byo, n'ebyo bye wategeeza, n'amateeka go, n'okukola ebyo byonna, n'okuzimba ennyumba gye ntegekedde ebintu. 13C1H029.020 And David said to all the congregation, Now bless the LORD your God. And all the congregation blessed the LORD God of their fathers, and bowed down their heads, and worshipped the LORD, and the king. %%% Dawudi n'agamba ekibiina kyonna nti Kaakano mwebaze Mukama Katonda wammwe. Ekibiina kyonna ne beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama ne kabaka. 13C1H029.021 And they sacrificed sacrifices unto the LORD, and offered burnt offerings unto the LORD, on the morrow after that day, even a thousand bullocks, a thousand rams, and a thousand lambs, with their drink offerings, and sacrifices in abundance for all Israel: %%% Ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku lw'okubiri olunaku olwo nga luwedde, ente lukumi n'endiga ennume lukumi, n'abaana b'endiga lukumi n'ebiweebwayo byako ebyokunywa, ne ssaddaaka nnyingi nnyo olwa Isiraeri yenna; 13C1H029.022 And did eat and drink before the LORD on that day with great gladness. And they made Solomon the son of David king the second time, and anointed him unto the LORD to be the chief governor, and Zadok to be priest. %%% ne baliira ne banywera mu maaso ga Mukama ku lunaku olwo ne basanyuka nnyo. Ne bafuula Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka omulundi ogw'okubiri, ne bamufukako amafuta eri Mukama okuba omulangira ne Zadoki okuba kabona. 13C1H029.023 Then Solomon sat on the throne of the LORD as king instead of David his father, and prospered; and all Israel obeyed him. %%% Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'alaba omukisa; Isiraeri yenna ne bamugondera. 13C1H029.024 And all the princes, and the mighty men, and all the sons likewise of king David, submitted themselves unto Solomon the king. %%% Abakulu bonna n'abasajja ab'amaanyi era ne batabani ba Dawudi kabaka bonna ne bagondera Sulemaani kabaka. 13C1H029.025 And the LORD magnified Solomon exceedingly in the sight of all Israel, and bestowed upon him such royal majesty as had not been on any king before him in Israel. %%% Mukama n'agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna n'amuwa ekitiibwa eky'obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri. 13C1H029.026 Thus David the son of Jesse reigned over all Israel. %%% Era Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isiraeri yenna. 13C1H029.027 And the time that he reigned over Israel was forty years; seven years reigned he in Hebron, and thirty and three years reigned he in Jerusalem. %%% N'ebiro bye yafugira Isiraeri byali emyaka amakumi ana; yafugira emyaka musanvu e Kebbulooni, era yafugira emyaka asatu mu esatu mu Yerusaalemi. 13C1H029.028 And he died in a good old age, full of days, riches, and honour: and Solomon his son reigned in his stead. %%% N'afa ng'akaddiye bulungi, ng'ajjudde ennaku n'obugagga n'ekitiibwa. Sulemaani mutabani we n'afuga mu kifo kye. 13C1H029.029 Now the acts of David the king, first and last, behold, they are written in the book of Samuel the seer, and in the book of Nathan the prophet, and in the book of Gad the seer, %%% Era ebikolwa bya Dawudi kabaka, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Samwiri omulabi ne mu bigambo bya Nasani nabbi ne mu bigambo bya Gaadi omulabi; 13C1H029.030 With all his reign and his might, and the times that went over him, and over Israel, and over all the kingdoms of the countries. %%% era n'okufuga kwe kwonna n'amaanyi ge n'ebiro ebyamuyitako ye ne Isiraeri n'amatwale gonna ag'ensi ezo. 14C2H001.001 And Solomon the son of David was strengthened in his kingdom, and the LORD his God was with him, and magnified him exceedingly. %%% Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, Mukama Katonda we n'aba naye, n'amugulumiza nnyo. 14C2H001.002 Then Solomon spake unto all Israel, to the captains of thousands and of hundreds, and to the judges, and to every governor in all Israel, the chief of the fathers. %%% Sulemaani n'ayogera ne Isiraeri yenna, abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abalamuzi na buli mukulu mu Isiraeri yenna, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe. 14C2H001.003 So Solomon, and all the congregation with him, went to the high place that was at Gibeon; for there was the tabernacle of the congregation of God, which Moses the servant of the LORD had made in the wilderness. %%% Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna wamu naye ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakola mu ddungu. 14C2H001.004 But the ark of God had David brought up from Kirjathjearim to the place which David had prepared for it: for he had pitched a tent for it at Jerusalem. %%% Naye essanduuko ya Katonda Dawudi yali agirinnyisizza n'agiggya e Kiriyasuyalimu n'agireeta mu kifo Dawudi kye yagitegekera: kubanga yali agikubidde eweema e Yerusaalemi. 14C2H001.005 Moreover the brasen altar, that Bezaleel the son of Uri, the son of Hur, had made, he put before the tabernacle of the LORD: and Solomon and the congregation sought unto it. %%% Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleri mutabani wa Uli mutabani wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama: Sulemaani n'ekibiina ne bagendanga gye kiri. 14C2H001.006 And Solomon went up thither to the brasen altar before the LORD, which was at the tabernacle of the congregation, and offered a thousand burnt offerings upon it. %%% Sulemaani n'ayambukayo eri ekyoto eky'ekikomo mu maaso ga Mukama ekyali ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi. 14C2H001.007 In that night did God appear unto Solomon, and said unto him, Ask what I shall give thee. %%% Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa. 14C2H001.008 And Solomon said unto God, Thou hast shewed great mercy unto David my father, and hast made me to reign in his stead. %%% Sulemaani n'agamba Katonda nti Walaga Dawudi kitange ekisa kingi, n'onfuula kabaka mu kifo kye. 14C2H001.009 Now, O LORD God, let thy promise unto David my father be established: for thou hast made me king over a people like the dust of the earth in multitude. %%% Kale, ai Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abafaanana enfuufu ey'oku nsi obungi. 14C2H001.010 Give me now wisdom and knowledge, that I may go out and come in before this people: for who can judge this thy people, that is so great? %%% Mpa nno amagezi n'okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g'abantu bano: kubanga ani ayinza okusalira emisango abantu bo bano abenkanidde awo obukulu? 14C2H001.011 And God said to Solomon, Because this was in thine heart, and thou hast not asked riches, wealth, or honour, nor the life of thine enemies, neither yet hast asked long life; but hast asked wisdom and knowledge for thyself, that thou mayest judge my people, over whom I have made thee king: %%% Katonda n'agamba Sulemaani nti Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, so tosabye bugagga, ebintu, newakubadde ekitiibwa, newakubadde obulamu bw'abo abakukyawa, so tosabye kuwangaala; naye weesabidde amagezi n'okumanya, osalirenga emisango abantu bange, be nkufuulidde kabaka: 14C2H001.012 Wisdom and knowledge is granted unto thee; and I will give thee riches, and wealth, and honour, such as none of the kings have had that have been before thee, neither shall there any after thee have the like. %%% amagezi n'okumanya oweereddwa; era ndikuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa by'atabanga nabyo n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba oluvannyuma lwo aliba nabyo. 14C2H001.013 Then Solomon came from his journey to the high place that was at Gibeon to Jerusalem, from before the tabernacle of the congregation, and reigned over Israel. %%% Awo Sulemaani n'ava ku lugendo lwe n'ajja eri ekifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, ng'ava mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ajja e Yerusaalemi; n'afuga Isiraeri. 14C2H001.014 And Solomon gathered chariots and horsemen: and he had a thousand and four hundred chariots, and twelve thousand horsemen, which he placed in the chariot cities, and with the king at Jerusalem. %%% Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi: era yalina amagaali lukumi mu bina n'abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi. 14C2H001.015 And the king made silver and gold at Jerusalem as plenteous as stones, and cedar trees made he as the sycomore trees that are in the vale for abundance. %%% Kabaka n'afuula ffeeza ne zaabu mu Yerusaalemi okuba ng'amayinja obungi, okuba ng'amayinja, n'emivule yagifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi. 14C2H001.016 And Solomon had horses brought out of Egypt, and linen yarn: the king's merchants received the linen yarn at a price. %%% Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri; abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo. 14C2H001.017 And they fetched up, and brought forth out of Egypt a chariot for six hundred shekels of silver, and an horse for an hundred and fifty: and so brought they out horses for all the kings of the Hittites, and for the kings of Syria, by their means. %%% Era eggaali baalikimanga nga baliggya mu Misiri nga lijjirira (sekeri) lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bassekabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bassekabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe. 14C2H002.001 And Solomon determined to build an house for the name of the LORD, and an house for his kingdom. %%% Awo Sulemaani n'ayagala okuzimbira erinnya lya Mukama ennyumba, n'ennyumba y'obwakabaka bwe. 14C2H002.002 And Solomon told out threescore and ten thousand men to bear burdens, and fourscore thousand to hew in the mountain, and three thousand and six hundred to oversee them. %%% Sulemaani n'ayawula abasajja obukumi musanvu, okwetikkanga emigugu, n'abasajja obukumi munaana abaatemanga ku nsozi, n'enkumi ssatu mu lukaaga okubalabiriranga. 14C2H002.003 And Solomon sent to Huram the king of Tyre, saying, As thou didst deal with David my father, and didst send him cedars to build him an house to dwell therein, even so deal with me. %%% Sulemaani n'atuma eri Kulamu kabaka w'e Ttuulo ng'ayogera nti Nga bwe wakolanga Dawudi kitange n'omuweereza emivule okuzimba ennyumba okubeera omwo, bw'otyo bw'oba okola nange. 14C2H002.004 Behold, I build an house to the name of the LORD my God, to dedicate it to him, and to burn before him sweet incense, and for the continual shewbread, and for the burnt offerings morning and evening, on the sabbaths, and on the new moons, and on the solemn feasts of the LORD our God. This is an ordinance for ever to Israel. %%% Laba, nzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba okugiwonga eri ye, n'okwotereza mu maaso ge obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'olw'emigaati egitaggwaawo, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe. Kino kye kiragiro eky'emirembe gyonna eri Isiraeri. 14C2H002.005 And the house which I build is great: for great is our God above all gods. %%% N'ennyunba gye nzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna. 14C2H002.006 But who is able to build him an house, seeing the heaven and heaven of heavens cannot contain him? who am I then, that I should build him an house, save only to burn sacrifice before him? %%% Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga eggulu n'eggulu erya waggulu taligyamu? nze nno nze ani mmuzimbire ennyumba, wabula okwoterezanga obubaane mu maaso ge? 14C2H002.007 Send me now therefore a man cunning to work in gold, and in silver, and in brass, and in iron, and in purple, and crimson, and blue, and that can skill to grave with the cunning men that are with me in Judah and in Jerusalem, whom David my father did provide. %%% Kale nno, mpeereza omusajja alina amagezi okukola omulimu ogwa zaabu, ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma, n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne kaniki, era omutegeevu okukola enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka. 14C2H002.008 Send me also cedar trees, fir trees, and algum trees, out of Lebanon: for I know that thy servants can skill to cut timber in Lebanon; and, behold, my servants shall be with thy servants, %%% Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo ng'ogiggya ku Lebanooni: kubanga mmanyi ng'abaddu bo bategeevu okutema emiti ku Lebanooni; era, laba, abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo, 14C2H002.009 Even to prepare me timber in abundance: for the house which I am about to build shall be wonderful great. %%% okunteekerateekera emiti mingi: kubanga ennyumba gy'eŋŋenda okuzimba eriba nnene kitalo. 14C2H002.010 And, behold, I will give to thy servants, the hewers that cut timber, twenty thousand measures of beaten wheat, and twenty thousand measures of barley, and twenty thousand baths of wine, and twenty thousand baths of oil. %%% Era, laba, ndiwa abaddu bo, ababazzi abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule obukumi bubiri, n'ebigero ebya sayiri obukumi bubiri, n'ebita eby'omwenge obukumi bubiri, n'ebita eby'amafuta obukumi bubiri. 14C2H002.011 Then Huram the king of Tyre answered in writing, which he sent to Solomon, Because the LORD hath loved his people, he hath made thee king over them. %%% Awo Kulamu kabaka w’e Ttuulo n'addamu ng'awandiika ebbaluwa n'agiweereza Sulemaani, nti Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyeyava akufuula kabaka waabwe. 14C2H002.012 Huram said moreover, Blessed be the LORD God of Israel, that made heaven and earth, who hath given to David the king a wise son, endued with prudence and understanding, that might build an house for the LORD, and an house for his kingdom. %%% Era Kulamu n'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, eyaweebwa amagezi n'okumanya, agenda okuzimbira Mukama ennyumba n'okuzimbira obwakabaka bwe ennyumba. 14C2H002.013 And now I have sent a cunning man, endued with understanding, of Huram my father's, %%% Kaakano nno mpeerezza omusajja ow'amagezi eyaweebwa okutegeera, owa Kulamu kitange, 14C2H002.014 The son of a woman of the daughters of Dan, and his father was a man of Tyre, skilful to work in gold, and in silver, in brass, in iron, in stone, and in timber, in purple, in blue, and in fine linen, and in crimson; also to grave any manner of graving, and to find out every device which shall be put to him, with thy cunning men, and with the cunning men of my lord David thy father. %%% Omwana w'omukazi ow'oku bawala ba Ddaani, ne kitaawe yali musajja wa Ttuulo, ow'amagezi okukola omulimu ogwa zaabu n'ogwa ffeeza n'ogw'ebikomo n'ogw'ebyuma n'ogw'amayinja n'ogw'emiti n'ogw'engoye ez'effulungu ne kaniki ne bafuta ennungi n'engoye entwakaavu; era n'okwola enjola ez'engeri zonna, n'okugunja engeri yonna egunjibwa: alagirwe ekifo wamu n'abasajja bo ab'amagezi n'abasajja ab'amagezi aba mukama wange Dawudi kitaawo. 14C2H002.015 Now therefore the wheat, and the barley, the oil, and the wine, which my lord hath spoken of, let him send unto his servants: %%% Kale nno, eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye yayogerako; atume eri abaddu be: 14C2H002.016 And we will cut wood out of Lebanon, as much as thou shalt need: and we will bring it to thee in floats by sea to Joppa; and thou shalt carry it up to Jerusalem. %%% naffe tulitema emiti ku Lebanooni, nga bw'olyagala obungi: era tuligireeti gy'oli nga tugikulula ku nnyanja ne tugituusa e Yopa; naawe oligirinnyisa e Yerusaalemi. 14C2H002.017 And Solomon numbered all the strangers that were in the land of Israel, after the numbering wherewith David his father had numbered them; and they were found an hundred and fifty thousand and three thousand and six hundred. %%% Awo Sulemaani n'abala bannaggwanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri ng'okubala bwe kwali Dawudi kitaawe kwe yababala: ne walabika kasiriivu mu obukumi butaano mu enkumi ssatu mu lukaaga. 14C2H002.018 And he set threescore and ten thousand of them to be bearers of burdens, and fourscore thousand to be hewers in the mountain, and three thousand and six hundred overseers to set the people a work. %%% N'assaawo obukumi musanvu ku bo okwetikkanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemanga ku nsozi n'abalabirizi enkumi ssatu mu lukaaga okukozanga abantu. 14C2H003.001 Then Solomon began to build the house of the LORD at Jerusalem in mount Moriah, where the Lord appeared unto David his father, in the place that David had prepared in the threshingfloor of Ornan the Jebusite. %%% Awo Sulemaani n'atanula okuzimba ennyumba ya Mukama Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe, gye yateekateeka mu kifo Dawudi kye yalagira, mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 14C2H003.002 And he began to build in the second day of the second month, in the fourth year of his reign. %%% Awo n'atanula okuzimba ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi ogw'okubiri mu mwaka ogw'okuna kasookedde alya obwakabaka. 14C2H003.003 Now these are the things wherein Solomon was instructed for the building of the house of God. The length by cubits after the first measure was threescore cubits, and the breadth twenty cubits. %%% Era gino gye misingi Sulemaani gye yakuba okizimba ennyumba ya Katonda Obuwanvu bwayo mu mikono ng'ekigero eky'olubereberye bwe kyali bwali emikono nkaaga, n'obugazi emikono amakumi abiri. 14C2H003.004 And the porch that was in the front of the house, the length of it was according to the breadth of the house, twenty cubits, and the height was an hundred and twenty: and he overlaid it within with pure gold. %%% N'ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, obuwanvu bwakyo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugulumivu kikumi mu abiri: n'akibikkako munda zaabu ennongoofu. 14C2H003.005 And the greater house he cieled with fir tree, which he overlaid with fine gold, and set thereon palm trees and chains. %%% N'ennyumba ennene n'agibikkako embaawo ez'emiberosi gye yabikkako zaabu ennongoofu, n'akolako enkindu n'emikuufu. 14C2H003.006 And he garnished the house with precious stones for beauty: and the gold was gold of Parvaim. %%% N'ayonja ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi olw'obulungi: ne zaabu yali zaabu Eyepaluvayimu. 14C2H003.007 He overlaid also the house, the beams, the posts, and the walls thereof, and the doors thereof, with gold; and graved cherubims on the walls. %%% Era n'ennyumba n'agibikkako zaabu, emiti n'emiryango n'ebisenge byayo n'enzigi zaayo; ne bakerubi ababajje ku bisenge. 14C2H003.008 And he made the most holy house, the length whereof was according to the breadth of the house, twenty cubits, and the breadth thereof twenty cubits: and he overlaid it with fine gold, amounting to six hundred talents. %%% N'akola ennyumba entukuvu ennyo; obuwanvu bwayo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri: n'agibikkako zaabu ennongoofu, eweza talanta lukaaga. 14C2H003.009 And the weight of the nails was fifty shekels of gold. And he overlaid the upper chambers with gold. %%% N'obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu amakumi ataano. N'abikkako zaabu enju eza waggulu. N'azibikkako zaabu. 14C2H003.010 And in the most holy house he made two cherubims of image work, and overlaid them with gold. %%% Ne mu nnyumba entukuvu ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'omulimu ogw'ebifaananyi; ne bababikkako zaabu. 14C2H003.011 And the wings of the cherubims were twenty cubits long: one wing of the one cherub was five cubits, reaching to the wall of the house: and the other wing was likewise five cubits, reaching to the wing of the other cherub. %%% N'ebiwawaatiro bya bakerubi obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri: n'ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro eky'okubiri nakyo bwe kityo kya mikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne. 14C2H003.012 And one wing of the other cherub was five cubits, reaching to the wall of the house: and the other wing was five cubits also, joining to the wing of the other cherub. %%% N'ekiwawaatiro kya kerubi munne kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro ekirala nakyo kya mikono etaano, nga kyegatta n'ekiwawaatiro kya kerubi munne. 14C2H003.013 The wings of these cherubims spread themselves forth twenty cubits: and they stood on their feet, and their faces were inward. %%% Ebiwawaatiro bya bakerubi abo byebamba emikono amakumi abiri: era baayimirira ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ennyumba. 14C2H003.014 And he made the vail of blue, and purple, and crimson, and fine linen, and wrought cherubims thereon. %%% N'akola eggigi lya kaniki n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne bafuta ennungi, n'alikolako bakerubi. 14C2H003.015 Also he made before the house two pillars of thirty and five cubits high, and the chapiter that was on the top of each of them was five cubits. %%% Era n'akola mu maaso g'ennyumba empagi bbiri, obugulumivu bwazo emikono amakumi asatu mu etaano, n'omutwe ogwali ku zo kinneemu gwali emikono etaano. 14C2H003.016 And he made chains, as in the oracle, and put them on the heads of the pillars; and made an hundred pomegranates, and put them on the chains. %%% N'akola emikuufu awayimibwa okwogera, n'agiteeka ku ntikko z'empagi; n'akola amakomamawanga kikumi n'agateeka ku mikuufu. 14C2H003.017 And he reared up the pillars before the temple, one on the right hand, and the other on the left; and called the name of that on the right hand Jachin, and the name of that on the left Boaz. %%% N'asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'erinnya ly'ey'oku gwa kkono Bowaazi. 14C2H004.001 Moreover he made an altar of brass, twenty cubits the length thereof, and twenty cubits the breadth thereof, and ten cubits the height thereof. %%% Era yakola n'ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi. 14C2H004.002 Also he made a molten sea of ten cubits from brim to brim, round in compass, and five cubits the height thereof; and a line of thirty cubits did compass it round about. %%% Era n'akola n'ennyanja ensaanuuse ey'emikono kkumi okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nneekulungirivu n'obugulumivu bwali emikono etaano; n'omugwa ogw'emikono amakumi asatu ne gugyetooloola. 14C2H004.003 And under it was the similitude of oxen, which did compass it round about: ten in a cubit, compassing the sea round about. Two rows of oxen were cast, when it was cast. %%% Era wansi waayo waaliwo ekifaananyi ky'ente, ekigyetooloolera emikono kkumi, nga kigyetooloola ennyanja enjuyi zonna. Ente zaali embu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa. 14C2H004.004 It stood upon twelve oxen, three looking toward the north, and three looking toward the west, and three looking toward the south, and three looking toward the east: and the sea was set above upon them, and all their hinder parts were inward. %%% Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira ebugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira ebuvanjuba: n'ennyanja ng'eteekeddwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda. 14C2H004.005 And the thickness of it was an handbreadth, and the brim of it like the work of the brim of a cup, with flowers of lilies; and it received and held three thousand baths. %%% N'obugazi bwayo luta; n'omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: ensuwa enkumi ssatu ezaayingiramu ne zigyamu. 14C2H004.006 He made also ten lavers, and put five on the right hand, and five on the left, to wash in them: such things as they offered for the burnt offering they washed in them; but the sea was for the priests to wash in. %%% Era n'akola eby'okwolezaamu kkumi, n'ateeka ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n'ebitaano ku gwa kkono, okubyolezangamu; ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye ennyanja yali ya bakabona okunaabirangamu. 14C2H004.007 And he made ten candlesticks of gold according to their form, and set them in the temple, five on the right hand, and five on the left. %%% N'akola ebikondo kkumi bya zaabu ng'ekiragiro kyabyo bwe kyali; n'abiteeka mu yeekaalu, ku mukono ogwa ddyo bitaano, ne ku gwa kkono bitaano. 14C2H004.008 He made also ten tables, and placed them in the temple, five on the right side, and five on the left. And he made an hundred basons of gold. %%% Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu yeekaalu, ku luuyi olwa ddyo ttaano, ne ku lwa kkono ttaano. N'akola ebibya kikumi bya zaabu. 14C2H004.009 Furthermore he made the court of the priests, and the great court, and doors for the court, and overlaid the doors of them with brass. %%% Era nate n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, n'enzigi z'oluggya, enzigi zaazo n'azibikkako ebikomo. 14C2H004.010 And he set the sea on the right side of the east end, over against the south. %%% N'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo. 14C2H004.011 And Huram made the pots, and the shovels, and the basons. And Huram finished the work that he was to make for king Solomon for the house of God; %%% Kulamu n'akola entamu n'ebisena n'ebibya. Awo Kulamu n'amala okukola omulimu gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Katonda: 14C2H004.012 To wit, the two pillars, and the pommels, and the chapiters which were on the top of the two pillars, and the two wreaths to cover the two pommels of the chapiters which were on the top of the pillars; %%% empagi zombi n'embuto, n'emitwe gyombi egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi; 14C2H004.013 And four hundred pomegranates on the two wreaths; two rows of pomegranates on each wreath, to cover the two pommels of the chapiters which were upon the pillars. %%% n'amakomamawanga ebikumi bina ag'oku bitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku mpagi. 14C2H004.014 He made also bases, and lavers made he upon the bases; %%% Era n'akola n'entebe, n'ebyolezebwamu n'abikola ku ntebe: 14C2H004.015 One sea, and twelve oxen under it. %%% ennyanja emu n'ente kkumi na bbiri wansi waayo. 14C2H004.016 The pots also, and the shovels, and the fleshhooks, and all their instruments, did Huram his father make to king Solomon for the house of the LORD of bright brass. %%% Era n'entamu n'ebisena n'amakato agakwasa ennyama n'ebintu byonna ebyako Kulamu kitaawe n'abikolera kabaka Sulemaani olw'ennyumba ya Mukama, bya bikomo bizigule. 14C2H004.017 In the plain of Jordan did the king cast them, in the clay ground between Succoth and Zeredathah. %%% Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda. 14C2H004.018 Thus Solomon made all these vessels in great abundance: for the weight of the brass could not be found out. %%% Bw'atyo Sulemaani bwe yakola ebintu byonna bingi nnyo nnyini: kubanga ebikomo obuzito bwabyo tebwategeerekeka. 14C2H004.019 And Solomon made all the vessels that were for the house of God, the golden altar also, and the tables whereon the shewbread was set; %%% Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga; 14C2H004.020 Moreover the candlesticks with their lamps, that they should burn after the manner before the oracle, of pure gold; %%% n'ebikondo n'ettabaaza zaabyo, zaakirenga mu maaso g'awayimibwa okwogera ng'ekiragiro bwe kyali, bya zaabu nnungi nnongoofu; 14C2H004.021 And the flowers, and the lamps, and the tongs, made he of gold, and that perfect gold; %%% n'ebimuli ne ttabaaza ne makaasi, bya zaabu, zaabu ntuukirivu; 14C2H004.022 And the snuffers, and the basons, and the spoons, and the censers, of pure gold: and the entry of the house, the inner doors thereof for the most holy place, and the doors of the house of the temple, were of gold. %%% n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu: n'omulyango gw'ennyumba, enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo ekitukuvu ennyo n'enzigi z'ennyumba, ye yeekaalu, zaali za zaabu. 14C2H005.001 Thus all the work that Solomon made for the house of the LORD was finished: and Solomon brought in all the things that David his father had dedicated; and the silver, and the gold, and all the instruments, put he among the treasures of the house of God. %%% Bwe gutyo omulimu gwonna Sulemaani gwe yakola olw'ennyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga; effeeza ne zaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda. 14C2H005.002 Then Solomon assembled the elders of Israel, and all the heads of the tribes, the chief of the fathers of the children of Israel, unto Jerusalem, to bring up the ark of the covenant of the LORD out of the city of David, which is Zion. %%% Awo Sulemaani n'alyoka akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu kibuga kya Dawudi, ye Sayuuni. 14C2H005.003 Wherefore all the men of Israel assembled themselves unto the king in the feast which was in the seventh month. %%% Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira eri kabaka ku mbaga, eyabaawo mu mwezi ogw'omusanvu. 14C2H005.004 And all the elders of Israel came; and the Levites took up the ark. %%% Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko. 14C2H005.005 And they brought up the ark, and the tabernacle of the congregation, and all the holy vessels that were in the tabernacle, these did the priests and the Levites bring up. %%% Ne balinnyisa essanduuko n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona Abaleevi ne babirinnyisa. 14C2H005.006 Also king Solomon, and all the congregation of Israel that were assembled unto him before the ark, sacrificed sheep and oxen, which could not be told nor numbered for multitude. %%% Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne baba mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente, ezitagattika newakubadde okubalika obungi. 14C2H005.007 And the priests brought in the ark of the covenant of the LORD unto his place, to the oracle of the house, into the most holy place, even under the wings of the cherubims: %%% Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa okwogera mu nnyumba, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi. 14C2H005.008 For the cherubims spread forth their wings over the place of the ark, and the cherubims covered the ark and the staves thereof above. %%% Kubanga bakerubi bayanjala ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky'essanduuko, bakerubi ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo waggulu. 14C2H005.009 And they drew out the staves of the ark, that the ends of the staves were seen from the ark before the oracle; but they were not seen without. And there it is unto this day. %%% N'emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima awali essanduuko mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye n'atagiraba ayima ebweru: era ekyali eyo ne leero. 14C2H005.010 There was nothing in the ark save the two tables which Moses put therein at Horeb, when the LORD made a covenant with the children of Israel, when they came out of Egypt. %%% Temwali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi Musa bye yateeka omwo ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, we baava mu Misiri. 14C2H005.011 And it came to pass, when the priests were come out of the holy place: (for all the priests that were present were sanctified, and did not then wait by course: %%% Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, (kubanga bakabona bonna abaali eyo baali beetukuzizza, so tebaakwata mpalo zaabwe; 14C2H005.012 Also the Levites which were the singers, all of them of Asaph, of Heman, of Jeduthun, with their sons and their brethren, being arrayed in white linen, having cymbals and psalteries and harps, stood at the east end of the altar, and with them an hundred and twenty priests sounding with trumpets:) %%% era n'Abaleevi abayimbi, bonna, Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, era wamu nabo bakabona kikumi mu abiri nga bafuuwa amakondeere:) 14C2H005.013 It came even to pass, as the trumpeters and singers were as one, to make one sound to be heard in praising and thanking the LORD; and when they lifted up their voice with the trumpets and cymbals and instruments of musick, and praised the LORD, saying, For he is good; for his mercy endureth for ever: that then the house was filled with a cloud, even the house of the LORD; %%% awo olwatuuka abaafuuwa n'abayimbi nga bafaanana omu, okuwuliza eddoboozi erimu nga batendereza nga beebaza Mukama, era bwe baayimusa eddoboozi lyabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: awo ennyumba n'eryoka ejjula ekire, ennyumba ya Mukama, 14C2H005.014 So that the priests could not stand to minister by reason of the cloud: for the glory of the LORD had filled the house of God. %%% bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda. 14C2H006.001 Then said Solomon, The LORD hath said that he would dwell in the thick darkness. %%% Awo Sulemaani n'alyoka ayogera nti Mukama ayogedde ng'anaatuulanga mu kizikiza ekikutte. 14C2H006.002 But I have built an house of habitation for thee, and a place for thy dwelling for ever. %%% Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, n'ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna. 14C2H006.003 And the king turned his face, and blessed the whole congregation of Israel: and all the congregation of Israel stood. %%% Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa: ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bayimirira. 14C2H006.004 And he said, Blessed be the LORD God of Israel, who hath with his hands fulfilled that which he spake with his mouth to my father David, saying, %%% N'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, era akituukirizza n'emikono gye, ng'ayogera nti 14C2H006.005 Since the day that I brought forth my people out of the land of Egypt I chose no city among all the tribes of Israel to build an house in, that my name might be there; neither chose I any man to be a ruler over my people Israel: %%% Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi y'e Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimbira omwo ennyumba, erinnya lyange libeere omwo; so seerobozanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri: 14C2H006.006 But I have chosen Jerusalem, that my name might be there; and have chosen David to be over my people Israel. %%% naye neerobozezza Yerusaalemi, erinnya lyange libeere omwo; era neerobozezza Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri. 14C2H006.007 Now it was in the heart of David my father to build an house for the name of the LORD God of Israel. %%% Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba. 14C2H006.008 But the LORD said to David my father, Forasmuch as it was in thine heart to build an house for my name, thou didst well in that it was in thine heart: %%% Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo: 14C2H006.009 Notwithstanding thou shalt not build the house; but thy son which shall come forth out of thy loins, he shall build the house for my name. %%% era naye ggwe tozimbanga nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba. 14C2H006.010 The LORD therefore hath performed his word that he hath spoken: for I am risen up in the room of David my father, and am set on the throne of Israel, as the LORD promised, and have built the house for the name of the LORD God of Israel. %%% Era Mukama atuukirizza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katcnda wa Isiraeri ennyumba. 14C2H006.011 And in it have I put the ark, wherein is the covenant of the LORD, that he made with the children of Israel. %%% Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana n'abaana ba Isiraeri. 14C2H006.012 And he stood before the altar of the LORD in the presence of all the congregation of Israel, and spread forth his hands: %%% N'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali n'ayanjuluza engalo ze: 14C2H006.013 For Solomon had made a brasen scaffold of five cubits long, and five cubits broad, and three cubits high, and had set it in the midst of the court: and upon it he stood, and kneeled down upon his knees before all the congregation of Israel, and spread forth his hands toward heaven, %%% (kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ebikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, n'akiteeka wakati mu luggya; n'ayimirira okwo, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu:) 14C2H006.014 And said, O LORD God of Israel, there is no God like thee in the heaven, nor in the earth; which keepest covenant, and shewest mercy unto thy servants, that walk before thee with all their hearts: %%% n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna: 14C2H006.015 Thou which hast kept with thy servant David my father that which thou hast promised him; and spakest with thy mouth, and hast fulfilled it with thine hand, as it is this day. %%% eyanyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe luri leero. 14C2H006.016 Now therefore, O LORD God of Israel, keep with thy servant David my father that which thou hast promised him, saying, There shall not fail thee a man in my sight to sit upon the throne of Israel; yet so that thy children take heed to their way to walk in my law, as thou hast walked before me. %%% Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange. 14C2H006.017 Now then, O LORD God of Israel, let thy word be verified, which thou hast spoken unto thy servant David. %%% Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe; kye wagamba omuddu wo Dawudi. 14C2H006.018 But will God in very deed dwell with men on the earth? behold, heaven and the heaven of heavens cannot contain thee; how much less this house which I have built! %%% Naye Katonda alituula mazima ddala n'abantu ku ttaka? laba, eggulu n'eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye eyinza etya ggwe okugigyamu? 14C2H006.019 Have respect therefore to the prayer of thy servant, and to his supplication, O LORD my God, to hearken unto the cry and the prayer which thy servant prayeth before thee: %%% Naye lowooza okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabye mu maaso go: 14C2H006.020 That thine eyes may be open upon this house day and night, upon the place whereof thou hast said that thou wouldest put thy name there; to hearken unto the prayer which thy servant prayeth toward this place. %%% amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo erinnya lyo; okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino. 14C2H006.021 Hearken therefore unto the supplications of thy servant, and of thy people Israel, which they shall make toward this place: hear thou from thy dwelling place, even from heaven; and when thou hearest, forgive. %%% Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wuliranga ggwe ng'oyima mu kifo kyo ky'obeeramu, ng'oyima mu ggulu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga. 14C2H006.022 If a man sin against his neighbour, and an oath be laid upon him to make him swear, and the oath come before thine altar in this house; %%% Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamulayiza ekirayiro ky'aba alayira, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno: 14C2H006.023 Then hear thou from heaven, and do, and judge thy servants, by requiting the wicked, by recompensing his way upon his own head; and by justifying the righteous, by giving him according to his righteousness. %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, okolanga, osaliranga abaddu bo omusango, ng'osasula ababi, okumuleetako ekkubo lye; era ng'oweesa obutuukirivu omutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli. 14C2H006.024 And if thy people Israel be put to the worse before the enemy, because they have sinned against thee; and shall return and confess thy name, and pray and make supplication before thee in this house; %%% Era abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; ne bakyuka nate ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu nnyumba eno: 14C2H006.025 Then hear thou from the heavens, and forgive the sin of thy people Israel, and bring them again unto the land which thou gavest to them and to their fathers. %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wawa bo ne bajjajja baabwe. 14C2H006.026 When the heaven is shut up, and there is no rain, because they have sinned against thee; yet if they pray toward this place, and confess thy name, and turn from their sin, when thou dost afflict them; %%% Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga: 14C2H006.027 Then hear thou from heaven, and forgive the sin of thy servants, and of thy people Israel, when thou hast taught them the good way, wherein they should walk; and send rain upon thy land, which thou hast given unto thy people for an inheritance. %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'onoobayigirizanga ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweerezanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika. 14C2H006.028 If there be dearth in the land, if there be pestilence, if there be blasting, or mildew, locusts, or caterpillers; if their enemies besiege them in the cities of their land; whatsoever sore or whatsoever sickness there be: %%% Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli bw'anafaanananga atya, n'endwadde bw'eneefaanananga etya; 14C2H006.029 Then what prayer or what supplication soever shall be made of any man, or of all thy people Israel, when every one shall know his own sore and his own grief, and shall spread forth his hands in this house: %%% kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno: 14C2H006.030 Then hear thou from heaven thy dwelling place, and forgive, and render unto every man according unto all his ways, whose heart thou knowest; (for thou only knowest the hearts of the children of men:) %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu, osonyiwanga osasulanga buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu;) 14C2H006.031 That they may fear thee, to walk in thy ways, so long as they live in the land which thou gavest unto our fathers. %%% balyoke bakutye okutambuliranga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe. 14C2H006.032 Moreover concerning the stranger, which is not of thy people Israel, but is come from a far country for thy great name's sake, and thy mighty hand, and thy stretched out arm; if they come and pray in this house; %%% Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa; bwe banajjanga ne basaba nga batunuulira ennyumba eno; 14C2H006.033 Then hear thou from the heavens, even from thy dwelling place, and do according to all that the stranger calleth to thee for; that all people of the earth may know thy name, and fear thee, as doth thy people Israel, and may know that this house which I have built is called by thy name. %%% owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo. 14C2H006.034 If thy people go out to war against their enemies by the way that thou shalt send them, and they pray unto thee toward this city which thou hast chosen, and the house which I have built for thy name; %%% Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne bakusabanga nga batunuulira ekibuga kino kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo: 14C2H006.035 Then hear thou from the heavens their prayer and their supplication, and maintain their cause. %%% kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe owozanga ensonga yaabwe. 14C2H006.036 If they sin against thee, (for there is no man which sinneth not,) and thou be angry with them, and deliver them over before their enemies, and they carry them away captives unto a land far off or near; %%% Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi oba wala oba kumpi; 14C2H006.037 Yet if they bethink themselves in the land whither they are carried captive, and turn and pray unto thee in the land of their captivity, saying, We have sinned, we have done amiss, and have dealt wickedly; %%% naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo; 14C2H006.038 If they return to thee with all their heart and with all their soul in the land of their captivity, whither they have carried them captives, and pray toward their land, which thou gavest unto their fathers, and toward the city which thou hast chosen, and toward the house which I have built for thy name: %%% bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey'okusibibwa kwabwe gye baabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajja baabwe, n'ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo; 14C2H006.039 Then hear thou from the heavens, even from thy dwelling place, their prayer and their supplications, and maintain their cause, and forgive thy people which have sinned against thee. %%% kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu owozanga ensonga yaabwe; osonyiwanga abantu bo abakwonoonye. 14C2H006.040 Now, my God, let, I beseech thee, thine eyes be open, and let thine ears be attent unto the prayer that is made in this place. %%% Kale, ai Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go gazibukenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino. 14C2H006.041 Now therefore arise, O LORD God, into thy resting place, thou, and the ark of thy strength: let thy priests, O LORD God, be clothed with salvation, and let thy saints rejoice in goodness. %%% Kale nno golokoka, ai Mukama Katonda, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ai Mukama Katonda, bambale obulokozi, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi. 14C2H006.042 O LORD God, turn not away the face of thine anointed: remember the mercies of David thy servant. %%% Ai Mukama Katonda, tokyusanga maaso g'oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okusaasirwa kwa Dawudi omuddu wo. 14C2H007.001 Now when Solomon had made an end of praying, the fire came down from heaven, and consumed the burnt offering and the sacrifices; and the glory of the LORD filled the house. %%% Awo Sulemaani bwe yamala okwogera omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba. 14C2H007.002 And the priests could not enter into the house of the LORD, because the glory of the LORD had filled the LORD's house. %%% Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kijjudde ennyumba ya Mukama. 14C2H007.003 And when all the children of Israel saw how the fire came down, and the glory of the LORD upon the house, they bowed themselves with their faces to the ground upon the pavement, and worshipped, and praised the LORD, saying, For he is good; for his mercy endureth for ever. %%% Abaana ba Isiraeri bonna ne batunuulira, omuliro bwe gwaka, ekitiibwa kya Mukama ne kiba ku nnyumba; ne bavuunama amaaso gaabwe ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 14C2H007.004 Then the king and all the people offered sacrifices before the LORD. %%% Awo kabaka n'abantu bonna ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. 14C2H007.005 And king Solomon offered a sacrifice of twenty and two thousand oxen, and an hundred and twenty thousand sheep: so the king and all the people dedicated the house of God. %%% Kabaka Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri, n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Awo kabaka n'abantu bonna ne bawonga ennyumba ya Katonda. 14C2H007.006 And the priests waited on their offices: the Levites also with instruments of musick of the LORD, which David the king had made to praise the LORD, because his mercy endureth for ever, when David praised by their ministry; and the priests sounded trumpets before them, and all Israel stood. %%% Bakabona ne bayimirira ng'emirimu gyabwe bwe gyali; era n'Abaleevi nga balina ebintu ebivuga ebya Mukama, Dawudi kabaka bye yakola okwebaza Mukama, kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna, Dawudi bwe yatenderezanga olw'okuweereza kwabwe: bakabona ne bafuuwa amakondeere mu maaso gaabwe; Isiraeri yenna ne bayimirira. 14C2H007.007 Moreover Solomon hallowed the middle of the court that was before the house of the LORD: for there he offered burnt offerings, and the fat of the peace offerings, because the brasen altar which Solomon had made was not able to receive the burnt offerings, and the meat offerings, and the fat. %%% Era Sulemaani n'atukuza oluggya wakati olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; kubanga yaweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe: kubanga ekyoto eky'ekikomo Sulemaani kye yakola tekyayinza kugyako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu. 14C2H007.008 Also at the same time Solomon kept the feast seven days, and all Israel with him, a very great congregation, from the entering in of Hamath unto the river of Egypt. %%% Awo Sulemaani n'afumba embaga mu biro ebyo ey'ennaku musanvu, ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene ennyo, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri. 14C2H007.009 And in the eighth day they made a solemn assembly: for they kept the dedication of the altar seven days, and the feast seven days. %%% Awo ku lunaku olw'omunaana ne bakuŋŋaanya okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga embaga ey'okuwonga ekyoto baagikwatira ennaku musanvu, n'embaga ennaku musanvu. 14C2H007.010 And on the three and twentieth day of the seventh month he sent the people away into their tents, glad and merry in heart for the goodness that the LORD had shewed unto David, and to Solomon, and to Israel his people. %%% Awo ku lunaku olw'amakumi abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu n'asindika abantu mu weema zaabwe, nga basanyuse era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be. 14C2H007.011 Thus Solomon finished the house of the LORD, and the king's house: and all that came into Solomon's heart to make in the house of the LORD, and in his own house, he prosperously effected. %%% Bw'atyo Sulemaani bwe yamala ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka: ne byonna ebyayingira mu mutima gwa Sulemaani okukola mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye n'abituusa bulungi. 14C2H007.012 And the LORD appeared to Solomon by night, and said unto him, I have heard thy prayer, and have chosen this place to myself for an house of sacrifice. %%% Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo ne nneeroboza gye ndi ekifo kino okuba ennyumba ey'okuweerangamu ssaddaaka. 14C2H007.013 If I shut up heaven that there be no rain, or if I command the locusts to devour the land, or if I send pestilence among my people; %%% Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange; 14C2H007.014 If my people, which are called by my name, shall humble themselves, and pray, and seek my face, and turn from their wicked ways; then will I hear from heaven, and will forgive their sin, and will heal their land. %%% abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale naawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe. 14C2H007.015 Now mine eyes shall be open, and mine ears attent unto the prayer that is made in this place. %%% Kale amaaso gange ganaazibukanga n'amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino. 14C2H007.016 For now have I chosen and sanctified this house, that my name may be there for ever: and mine eyes and mine heart shall be there perpetually. %%% Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga eyo obutayosa. 14C2H007.017 And as for thee, if thou wilt walk before me, as David thy father walked, and do according to all that I have commanded thee, and shalt observe my statutes and my judgments; %%% Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'emisango gyange; 14C2H007.018 Then will I stablish the throne of thy kingdom, according as I have covenanted with David thy father, saying, There shall not fail thee a man to be ruler in Israel. %%% kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja okuba afuga mu Isiraeri. 14C2H007.019 But if ye turn away, and forsake my statutes and my commandments, which I have set before you, and shall go and serve other gods, and worship them; %%% Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye ntadde mu maaso gammwe, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza: 14C2H007.020 Then will I pluck them up by the roots out of my land which I have given them; and this house, which I have sanctified for my name, will I cast out of my sight, and will make it to be a proverb and a byword among all nations. %%% awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigisuula okuva mu maaso gange, era ndigifuula olugero n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna. 14C2H007.021 And this house, which is high, shall be an astonishment to every one that passeth by it; so that he shall say, Why hath the LORD done thus unto this land, and unto this house? %%% N'ennyumba eno empanvu eyenkanidde awo buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno? 14C2H007.022 And it shall be answered, Because they forsook the LORD God of their fathers, which brought them forth out of the land of Egypt, and laid hold on other gods, and worshipped them, and served them: therefore hath he brought all this evil upon them. %%% Kale banaddangamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abaleetako obubi buno bwonna. 14C2H008.001 And it came to pass at the end of twenty years, wherein Solomon had built the house of the LORD, and his own house, %%% Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ye, 14C2H008.002 That the cities which Huram had restored to Solomon, Solomon built them, and caused the children of Israel to dwell there. %%% ebibuga Kulamu bye yawa Sulemaani, Sulemaani n'abizimba n’atuuza omwo abaana ba Isiraeri. 14C2H008.003 And Solomon went to Hamathzobah, and prevailed against it. %%% Awo Sulemaani n'agenda Kamasuzoba n'akimenya. 14C2H008.004 And he built Tadmor in the wilderness, and all the store cities, which he built in Hamath. %%% n'azimba Tadumoli mu ddungu n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu yazimba mu Kamasi. 14C2H008.005 Also he built Bethhoron the upper, and Bethhoron the nether, fenced cities, with walls, gates, and bars; %%% Era, n’azimba ne Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, ebibuga ebiriko enkomera ne bbugwe n’enzigi n'ebisiba; 14C2H008.006 And Baalath, and all the store cities that Solomon had, and all the chariot cities, and the cities of the horsemen, and all that Solomon desired to build in Jerusalem, and in Lebanon, and throughout all the land of his dominion. %%% ne Baalasi n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina, n'ebibuga byonna eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba olw'okwesanyusa kwe mu Yerusaalemi ne mu, Lebanooni ne mu nsi yonna ey'amatwale ge. 14C2H008.007 As for all the people that were left of the Hittites, and the Amorites, and the Perizzites, and the Hivites, and the Jebusites, which were not of Israel, %%% Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n'Abamoli n'Abaperini n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri; 14C2H008.008 But of their children, who were left after them in the land, whom the children of Israel consumed not, them did Solomon make to pay tribute until this day. %%% ku baana baabwe abaasigalawo oluvannyuma lwabwe mu nsi, abaana ba Isiraeri be bataazikiriza, ku abo Sulemaani kwe yasoloozanga (abaddu) ne leero. 14C2H008.009 But of the children of Israel did Solomon make no servants for his work; but they were men of war, and chief of his captains, and captains of his chariots and horsemen. %%% Naye ku baana ba Isiraeri Sulemaani teyafuulangako baddu olw'omulimu gwe; naye ne baba basajja balwanyi era abakulu b'abaami be era abafuga amagaali ge n'abasajja be abeebagala embalaasi. 14C2H008.010 And these were the chief of king Solomon's officers, even two hundred and fifty, that bare rule over the people. %%% Era bano be baali abaami abakulu aba kabaka Sulemaani, ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu. 14C2H008.011 And Solomon brought up the daughter of Pharaoh out of the city of David unto the house that he had built for her: for he said, My wife shall not dwell in the house of David king of Israel, because the places are holy, whereunto the ark of the LORD hath come. %%% Sulemaani n'ayambusa muwala wa Falaawo ng'amuggya mu kibuga kya Dawudi n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira: kubanga yayogera nti Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumha ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ebifo bitukuvu essanduuko ya Mukama gye yatuuka. 14C2H008.012 Then Solomon offered burnt offerings unto the LORD on the altar of the LORD, which he had built before the porch, %%% Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso g'ekisasi, 14C2H008.013 Even after a certain rate every day, offering according to the commandment of Moses, on the sabbaths, and on the new moons, and on the solemn feasts, three times in the year, even in the feast of unleavened bread, and in the feast of weeks, and in the feast of tabernacles. %%% ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, ng'awaayo ng'ekiragiro kya Musa bwe kyali ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaalagirwa, emirundi esatu buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ne ku mbaga eya ssabbiiti ne ku mbaga ey'ensiisira. 14C2H008.014 And he appointed, according to the order of David his father, the courses of the priests to their service, and the Levites to their charges, to praise and minister before the priests, as the duty of every day required: the porters also by their courses at every gate: for so had David the man of God commanded. %%% N'agaba empalo za bakabona olw'okuweereza kwabwe ng'ekiragiro kya Dawudi kitaawe bwe kyali, n'awa Abaleevi ebyo bye baalagirwa, okutenderezanga n'okuweereza mu maaso ga bakabona, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali: era n'abaggazi ng'empalo zaabwe bwe zaali ku buli mulyango: kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. 14C2H008.015 And they departed not from the commandment of the king unto the priests and Levites concerning any matter, or concerning the treasures. %%% Ne batava mu kiragiro kya kabaka kye yalagira bakabona n'Abaleevi olw'ekigambo kyonna oba olw'ebintu ebyaterekebwa. 14C2H008.016 Now all the work of Solomon was prepared unto the day of the foundation of the house of the LORD, and until it was finished. So the house of the LORD was perfected. %%% Awo omulimu gwonna ogwa Sulemaani ne gutegekerwa olunaku olw'okussaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama n'okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyunba ya Mukama n'etuusibwa ddala. 14C2H008.017 Then went Solomon to Eziongeber, and to Eloth, at the sea side in the land of Edom. %%% Awo Sulemaani n'agenda Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku ttale y'ennyanja mu nsi ya Edomu. 14C2H008.018 And Huram sent him by the hands of his servants ships, and servants that had knowledge of the sea; and they went with the servants of Solomon to Ophir, and took thence four hundred and fifty talents of gold, and brought them to king Solomon. %%% Kulamu n'amuweereza mu mikono gy'abaddu be ebyombo n'abaddu abaamanya ennyanja; ne bajja wamu n'abaddu ba Sulemaani e Ofiri, ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu ataano, ne bazireeta eri kabaka Sulemaani. 14C2H009.001 And when the queen of Sheba heard of the fame of Solomon, she came to prove Solomon with hard questions at Jerusalem, with a very great company, and camels that bare spices, and gold in abundance, and precious stones: and when she was come to Solomon, she communed with him of all that was in her heart. %%% Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja okukema Sulemaani n’ebibuuzibwa ebizibu, e Yerusaalemi, ng'alina abaddu bangi nnyo n’eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa ne zaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi: awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe. 14C2H009.002 And Solomon told her all her questions: and there was nothing hid from Solomon which he told her not. %%% Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza. 14C2H009.003 And when the queen of Sheba had seen the wisdom of Solomon, and the house that he had built, %%% Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba, 14C2H009.004 And the meat of his table, and the sitting of his servants, and the attendance of his ministers, and their apparel; his cupbearers also, and their apparel; and his ascent by which he went up into the house of the LORD; there was no more spirit in her. %%% n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe; n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnnyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye. 14C2H009.005 And she said to the king, It was a true report which I heard in mine own land of thine acts, and of thy wisdom: %%% N'agamba kabaka nti Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange kyali kya mazima eky'ebikolwa byo n'amagezi go. 14C2H009.006 Howbeit I believed not their words, until I came, and mine eyes had seen it: and, behold, the one half of the greatness of thy wisdom was not told me: for thou exceedest the fame that I heard. %%% Era naye sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nnajja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu kya bukulu bw'amagezi go: osinga ettutumo lye nnawulira. 14C2H009.007 Happy are thy men, and happy are these thy servants, which stand continually before thee, and hear thy wisdom. %%% Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go. 14C2H009.008 Blessed be the LORD thy God, which delighted in thee to set thee on his throne, to be king for the LORD thy God: because thy God loved Israel, to establish them for ever, therefore made he thee king over them, to do judgment and justice. %%% Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusanyukira okukuteeka ku ntebe okuba kabaka olwa Mukama Katonda wo: kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okukolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu. 14C2H009.009 And she gave the king an hundred and twenty talents of gold, and of spices great abundance, and precious stones: neither was there any such spice as the queen of Sheba gave king Solomon. %%% Awo n'awa kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri, n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: so tewaabaawo bya kaloosa ebyenkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi w'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani. 14C2H009.010 And the servants also of Huram, and the servants of Solomon, which brought gold from Ophir, brought algum trees and precious stones. %%% Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi. 14C2H009.011 And the king made of the algum trees terraces to the house of the LORD, and to the king's palace, and harps and psalteries for singers: and there were none such seen before in the land of Judah. %%% Kabaka n'akola n'emitoogo entindo ez'ennyumba za Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: so tewaalabikanga edda mu nsi ya Yuda egifaanana bwe gityo. 14C2H009.012 And king Solomon gave to the queen of Sheba all her desire, whatsoever she asked, beside that which she had brought unto the king. So she turned, and went away to her own land, she and her servants. %%% Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo bye yaleetera kabaka. Awo n'akyusa n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be. 14C2H009.013 Now the weight of gold that came to Solomon in one year was six hundred and threescore and six talents of gold; %%% Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta za zaabu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga, 14C2H009.014 Beside that which chapmen and merchants brought. And all the kings of Arabia and governors of the country brought gold and silver to Solomon. %%% obutassaako eyo abasuubuzi n'ab'obuguzi gye baaleetanga: ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abakulu b'ensi ne baleetera Sulemaani zaabu n'effeeza. 14C2H009.015 And king Solomon made two hundred targets of beaten gold: six hundred shekels of beaten gold went to one target. %%% Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo ebikumi bibiri ebya zaabu empeese: buli kagabo n'akawaako (sekeri) za zaabu lukaaga. 14C2H009.016 And three hundred shields made he of beaten gold: three hundred shekels of gold went to one shield. And the king put them in the house of the forest of Lebanon. %%% N'akola engabo ebikumi bisatu ebya zaabu empeese; buli ngabo n'agiwaako sekeri ebikumi bisatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni. 14C2H009.017 Moreover the king made a great throne of ivory, and overlaid it with pure gold. %%% Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi. 14C2H009.018 And there were six steps to the throne, with a footstool of gold, which were fastened to the throne, and stays on each side of the sitting place, and two lions standing by the stays: %%% Entebe yaliko amadaala mukaaga, era yaliko entebe ey'ebigere eya zaabu, era gaasibibwa n'entebe, era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono. 14C2H009.019 And twelve lions stood there on the one side and on the other upon the six steps. There was not the like made in any kingdom. %%% N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga: tewali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana. 14C2H009.020 And all the drinking vessels of king Solomon were of gold, and all the vessels of the house of the forest of Lebanon were of pure gold: none were of silver; it was not any thing accounted of in the days of Solomon. %%% Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: ffeeza teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani. 14C2H009.021 For the king's ships went to Tarshish with the servants of Huram: every three years once came the ships of Tarshish bringing gold, and silver, ivory, and apes, and peacocks. %%% Kubanga kabaka yalina malikebu ezaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; malikebu ez'e Talusiisi zajjanga mulundi gumu buli myaka esatu nga zireeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge. 14C2H009.022 And king Solomon passed all the kings of the earth in riches and wisdom. %%% Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi. 14C2H009.023 And all the kings of the earth sought the presence of Solomon, to hear his wisdom, that God had put in his heart. %%% Bakabaka b'ensi bonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge Katonda ge yali atadde mu mutima gwe. 14C2H009.024 And they brought every man his present, vessels of silver, and vessels of gold, and raiment, harness, and spices, horses, and mules, a rate year by year. %%% Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka. 14C2H009.025 And Solomon had four thousand stalls for horses and chariots, and twelve thousand horsemen; whom he bestowed in the chariot cities, and with the king at Jerusalem. %%% Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya olw'embalaasi n'amagaali, n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi. 14C2H009.026 And he reigned over all the kings from the river even unto the land of the Philistines, and to the border of Egypt. %%% Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo ey'e Misiri. 14C2H009.027 And the king made silver in Jerusalem as stones, and cedar trees made he as the sycomore trees that are in the low plains in abundance. %%% Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi. 14C2H009.028 And they brought unto Solomon horses out of Egypt, and out of all lands. %%% Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna. 14C2H009.029 Now the rest of the acts of Solomon, first and last, are they not written in the book of Nathan the prophet, and in the prophecy of Ahijah the Shilonite, and in the visions of Iddo the seer against Jeroboam the son of Nebat? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Nasani nnabbi ne mu ebyo bye yalagula Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi okwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati? 14C2H009.030 And Solomon reigned in Jerusalem over all Israel forty years. %%% Sulemaani n'afugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana. 14C2H009.031 And Solomon slept with his fathers, and he was buried in the city of David his father: and Rehoboam his son reigned in his stead. %%% Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 14C2H010.001 And Rehoboam went to Shechem: for to Shechem were all Israel come to make him king. %%% Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu okumufuula kabaka. 14C2H010.002 And it came to pass, when Jeroboam the son of Nebat, who was in Egypt, whither he had fled from the presence of Solomon the king, heard it, that Jeroboam returned out of Egypt. %%% Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, (kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani,) Yerobowaamu n'ava mu Misiri n'akomawo. 14C2H010.003 And they sent and called him. So Jeroboam and all Israel came and spake to Rehoboam, saying, %%% Ne batuma, ne bamuyita; awo Yerobowaamu ne Isiraeri yenna ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti 14C2H010.004 Thy father made our yoke grievous: now therefore ease thou somewhat the grievous servitude of thy father, and his heavy yoke that he put upon us, and we will serve thee. %%% Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula, ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweerezanga. 14C2H010.005 And he said unto them, Come again unto me after three days. And the people departed. %%% N'abagamba nti Mumale ennaku ssatu, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda. 14C2H010.006 And king Rehoboam took counsel with the old men that had stood before Solomon his father while he yet lived, saying, What counsel give ye me to return answer to this people? %%% Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bonna? 14C2H010.007 And they spake unto him, saying, If thou be kind to this people, and please them, and speak good words to them, they will be thy servants for ever. %%% Ne bamugamba nti Bw'onookola eby'ekisa abantu bano n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna. 14C2H010.008 But he forsook the counsel which the old men gave him, and took counsel with the young men that were brought up with him, that stood before him. %%% Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge. 14C2H010.009 And he said unto them, What advice give ye that we may return answer to this people, which have spoken to me, saying, Ease somewhat the yoke that thy father did put upon us? %%% N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako? 14C2H010.010 And the young men that were brought up with him spake unto him, saying, Thus shalt thou answer the people that spake unto thee, saying, Thy father made our yoke heavy, but make thou it somewhat lighter for us; thus shalt thou say unto them, My little finger shall be thicker than my father's loins. %%% Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange. 14C2H010.011 For whereas my father put a heavy yoke upon you, I will put more to your yoke: my father chastised you with whips, but I will chastise you with scorpions. %%% Era nno kubanga kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze naayongeranga ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa. 14C2H010.012 So Jeroboam and all the people came to Rehoboam on the third day, as the king bade, saying, Come again to me on the third day. %%% Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu. 14C2H010.013 And the king answered them roughly; and king Rehoboam forsook the counsel of the old men, %%% Awo kabaka n'abaddamu n'ebboggo, kabaka Lekobowaamu n'aleka okuteesa kw'abakadde; 14C2H010.014 And answered them after the advice of the young men, saying, My father made your yoke heavy, but I will add thereto: my father chastised you with whips, but I will chastise you with scorpions. %%% n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali ng'ayogera nti Kitange yafuulanga ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze naayongerangako: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa. 14C2H010.015 So the king hearkened not unto the people: for the cause was of God, that the LORD might perform his word, which he spake by the hand of Ahijah the Shilonite to Jeroboam the son of Nebat. %%% Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Katonda kye yaleeta, Mukama anyweze ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro. 14C2H010.016 And when all Israel saw that the king would not hearken unto them, the people answered the king, saying, What portion have we in David? and we have none inheritance in the son of Jesse: every man to your tents, O Israel: and now, David, see to thine own house. So all Israel went to their tents. %%% Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: buli muntu mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri yenna ne baddayo mu weema zaabwe. 14C2H010.017 But as for the children of Israel that dwelt in the cities of Judah, Rehoboam reigned over them. %%% Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga. 14C2H010.018 Then king Rehoboam sent Hadoram that was over the tribute; and the children of Israel stoned him with stones, that he died. But king Rehoboam made speed to get him up to his chariot, to flee to Jerusalem. %%% Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali omukulu w'omusolo; abaana ba Isiraeri ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya mu ggaali lye okuddukira mu Yerusaalemi. 14C2H010.019 And Israel rebelled against the house of David unto this day. %%% Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero. 14C2H011.001 And when Rehoboam was come to Jerusalem, he gathered of the house of Judah and Benjamin an hundred and fourscore thousand chosen men, which were warriors, to fight against Israel, that he might bring the kingdom again to Rehoboam. %%% Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda ne Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu. 14C2H011.002 But the word of the LORD came to Shemaiah the man of God, saying, %%% Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti 14C2H011.003 Speak unto Rehoboam the son of Solomon, king of Judah, and to all Israel in Judah and Benjamin, saying, %%% Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka lwa Yuda, ne Isiraeri yenna mu Yuda ne Benyamini, ng'oyogera nti 14C2H011.004 Thus saith the LORD, Ye shall not go up, nor fight against your brethren: return every man to his house: for this thing is done of me. And they obeyed the words of the LORD, and returned from going against Jeroboam. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okutabaala Yerobowaamu. 14C2H011.005 And Rehoboam dwelt in Jerusalem, and built cities for defence in Judah. %%% Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi n'azimba ebibuga mu Yuda okuba ebigo. 14C2H011.006 He built even Bethlehem, and Etam, and Tekoa, %%% N'azimba Besirekemu ne Etamu ne Tekowa 14C2H011.007 And Bethzur, and Shoco, and Adullam, %%% ne Besuzuli ne Soko ne Adulamu 14C2H011.008 And Gath, and Mareshah, and Ziph, %%% ne Gaasi ne Malesa ne Zifu, 14C2H011.009 And Adoraim, and Lachish, and Azekah, %%% ne Adorayimu ne Lakisi ne Azeka 14C2H011.010 And Zorah, and Aijalon, and Hebron, which are in Judah and in Benjamin fenced cities. %%% ne Zola ne Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko enkomera. 14C2H011.011 And he fortified the strong holds, and put captains in them, and store of victual, and of oil and wine. %%% Ebigo n'abizimbako enkomera, n'abiteekamu abaami n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta n'omwenge. 14C2H011.012 And in every several city he put shields and spears, and made them exceeding strong, having Judah and Benjamin on his side. %%% Ne mu buli kibuga kinnakimu n'ateekamu engabo n'amafumu, n'abinyweza nnyo nnyini. Yuda ne Benyamini ne baba babe. 14C2H011.013 And the priests and the Levites that were in all Israel resorted to him out of all their coasts. %%% Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bagendanga gy'ali okuva mu nsalo zaabwe zonna. 14C2H011.014 For the Levites left their suburbs and their possession, and came to Judah and Jerusalem: for Jeroboam and his sons had cast them off from executing the priest's office unto the LORD: %%% Kubanga Abaleevi baaleka ebyalo byabwe eby'oku bibuga n'obutaka bwabwe ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba baleme okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama: 14C2H011.015 And he ordained him priests for the high places, and for the devils, and for the calves which he had made. %%% ne yeetekerawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu n'ab'embuzi ennume n'ab'ennyana ze yakola. 14C2H011.016 And after them out of all the tribes of Israel such as set their hearts to seek the LORD God of Israel came to Jerusalem, to sacrifice unto the LORD God of their fathers. %%% Awo ne babagoberera bonna abaateeka emitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri ab'omu bika byonna ebya Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 14C2H011.017 So they strengthened the kingdom of Judah, and made Rehoboam the son of Solomon strong, three years: for three years they walked in the way of David and Solomon. %%% Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bamunywereza emyaka esatu Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani: kubanga baatambulira emyaka esatu mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani. 14C2H011.018 And Rehoboam took him Mahalath the daughter of Jerimoth the son of David to wife, and Abihail the daughter of Eliab the son of Jesse; %%% Awo Lekobowaamu n'afumbirwa omukazi Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era owa Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese; 14C2H011.019 Which bare him children; Jeush, and Shamariah, and Zaham. %%% n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; Yewusi ne Semaliya ne Zakamu. 14C2H011.020 And after her he took Maachah the daughter of Absalom; which bare him Abijah, and Attai, and Ziza, and Shelomith. %%% Oluvannyuma lwe n'afumbirwa Maaka muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya ne Attayi ne Ziza ne Seromisi. 14C2H011.021 And Rehoboam loved Maachah the daughter of Absalom above all his wives and his concubines: (for he took eighteen wives, and threescore concubines; and begat twenty and eight sons, and threescore daughters.) %%% Lekobowaamu n'ayagala Maaka muwala wa Abusaalomu okukira bakazi be bonna n'abazaana be bonna; (kubanga yawasa abakazi kkumi na munaana n'abazaana nkaaga, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana n'ab'o buwala nkaaga). 14C2H011.022 And Rehoboam made Abijah the son of Maachah the chief, to be ruler among his brethren: for he thought to make him king. %%% Lekobowaamu n'assaawo Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu, asinga baganda be obukulu: kubanga yayagala okumufuula kabaka. 14C2H011.023 And he dealt wisely, and dispersed of all his children throughout all the countries of Judah and Benjamin, unto every fenced city: and he gave them victual in abundance. And he desired many wives. %%% N'akola eby'amagezi, n'asaasaanya batabani be bonna mu nsi zonna eza Yuda ne Benyamini, mu buli kibuga ekiriko olukomera: n'abawa ebyokulya bingi nnyo. N'abanoonyeza abakazi bangi. 14C2H012.001 And it came to pass, when Rehoboam had established the kingdom, and had strengthened himself, he forsook the law of the LORD, and all Israel with him. %%% Awo olwatuuka obwakabaka bwa Lekobowaamu bwe bwanywezebwa n'aba n'amaanyi, kale n'aleka amateeka ga Mukama, ne Isiraeri yenna wamu naye. 14C2H012.002 And it came to pass, that in the fifth year of king Rehoboam Shishak king of Egypt came up against Jerusalem, because they had transgressed against the LORD, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi, kubanga basobezza Mukama, 14C2H012.003 With twelve hundred chariots, and threescore thousand horsemen: and the people were without number that came with him out of Egypt; the Lubims, the Sukkiims, and the Ethiopians. %%% ng'alina amagaali lukumi mu ebikumi bibiri n'abasajja abeebagala embalaasi obukumi mukaaga: n'abantu abajja naye abaava mu Misiri nga tebabalika; Abalubimu n'Abasukkiyimu n'Abaesiyopya. 14C2H012.004 And he took the fenced cities which pertained to Judah, and came to Jerusalem. %%% N'amenya ebibuga ebiriko enkomera ebya Yuda, n'ajja e Yerusaalemi. 14C2H012.005 Then came Shemaiah the prophet to Rehoboam, and to the princes of Judah, that were gathered together to Jerusalem because of Shishak, and said unto them, Thus saith the LORD, Ye have forsaken me, and therefore have I also left you in the hand of Shishak. %%% Awo Semaaya nabbi n'ajja eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olwa Sisaki, n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbaleka mu mukono gwa Sisaki. 14C2H012.006 Whereupon the princes of Israel and the king humbled themselves; and they said, The LORD is righteous. %%% Awo abakulu ba Isiraeri ne kabaka ne beetoowaza; ne boogera nti Mukama mutuukirivu. 14C2H012.007 And when the LORD saw that they humbled themselves, the word of the LORD came to Shemaiah, saying, They have humbled themselves; therefore I will not destroy them, but I will grant them some deliverance; and my wrath shall not be poured out upon Jerusalem by the hand of Shishak. %%% Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Semaaya nga kyogera nti Beetoowazizza; siribazikiriza: naye naabawaako okuwonyezebwa, n'obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki. 14C2H012.008 Nevertheless they shall be his servants; that they may know my service, and the service of the kingdoms of the countries. %%% Era naye baliba baddu be; bamanye okuweereza kwange n'okuweereza kw'obwakabaka bw'ensi bwe kufaanana. 14C2H012.009 So Shishak king of Egypt came up against Jerusalem, and took away the treasures of the house of the LORD, and the treasures of the king's house; he took all: he carried away also the shields of gold which Solomon had made. %%% Awo Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi n'aggyayo obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka; byonna n'abitwalira ddala: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yakola. 14C2H012.010 Instead of which king Rehoboam made shields of brass, and committed them to the hands of the chief of the guard, that kept the entrance of the king's house. %%% Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu bifo byazo, n'aziteresa mu mikono gy'abaami b'abambowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka. 14C2H012.011 And when the king entered into the house of the LORD, the guard came and fetched them, and brought them again into the guard chamber. %%% Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bajja ne bazisitula, ne bazizza mu nju ey'abakuumi. 14C2H012.012 And when he humbled himself, the wrath of the LORD turned from him, that he would not destroy him altogether: and also in Judah things went well. %%% Awo bwe yeetoowaza, obusungu bwa Mukama ne bukyuka okumuvaako, aleme okumuzikiririza ddala: era nate mu Yuda mwalabika ebirungi. 14C2H012.013 So king Rehoboam strengthened himself in Jerusalem, and reigned: for Rehoboam was one and forty years old when he began to reign, and he reigned seventeen years in Jerusalem, the city which the LORD had chosen out of all the tribes of Israel, to put his name there. And his mother's name was Naamah an Ammonitess. %%% Awo kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi n'afuga, kubanga Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n’erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni. 14C2H012.014 And he did evil, because he prepared not his heart to seek the LORD. %%% N'akola ebyali ebibi, kubanga teyakakasa mutima gwe okunoonya Mukama. 14C2H012.015 Now the acts of Rehoboam, first and last, are they not written in the book of Shemaiah the prophet, and of Iddo the seer concerning genealogies? And there were wars between Rehoboam and Jeroboam continually. %%% Era ebikolwa bya Lekobowaamu, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi ng'engeri bw'eri ey'ebitabo eby'okuzaalibwa? Ne wabanga entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu obutayosa. 14C2H012.016 And Rehoboam slept with his fathers, and was buried in the city of David: and Abijah his son reigned in his stead. %%% Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi: Abiya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 14C2H013.001 Now in the eighteenth year of king Jeroboam began Abijah to reign over Judah. %%% Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yerobowaamu Abiya n'atanula okufuga Yuda. 14C2H013.002 He reigned three years in Jerusalem. His mother's name also was Michaiah the daughter of Uriel of Gibeah. And there was war between Abijah and Jeroboam. %%% N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyali Mikaaya muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabanga entalo eri Abiya ne Yerobowaamu. 14C2H013.003 And Abijah set the battle in array with an army of valiant men of war, even four hundred thousand chosen men: Jeroboam also set the battle in array against him with eight hundred thousand chosen men, being mighty men of valour. %%% Abiya n'alumba ng'alina eggye ery'abasajja abazira abalwanyi, abasajja abalonde obusiriivu buna: Yerobowaamu n'asimba ennyiriri okulwana naye ng'alina abasajja abalonde obusiriivu munaana ab'amaanyi abazira. 14C2H013.004 And Abijah stood up upon mount Zemaraim, which is in mount Ephraim, and said, Hear me, thou Jeroboam, and all Israel; %%% Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ayogera nti Mumpulire, mmwe Yerobowaamu ne Isiraeri yenna; 14C2H013.005 Ought ye not to know that the LORD God of Israel gave the kingdom over Israel to David for ever, even to him and to his sons by a covenant of salt? %%% temwagwana kumanya nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi obwakabaka bwa Isiraeri okumala emirembe gyo, ye ne batabaai be n'endagaano ey'omunnyo? 14C2H013.006 Yet Jeroboam the son of Nebat, the servant of Solomon the son of David, is risen up, and hath rebelled against his lord. %%% Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi n'agolokoka n'ajeemera mukama we. 14C2H013.007 And there are gathered unto him vain men, the children of Belial, and have strengthened themselves against Rehoboam the son of Solomon, when Rehoboam was young and tenderhearted, and could not withstand them. %%% Ne wakuŋŋaana gy'ali abasajja abataliiko kye bagasa, abaana ba Beriali, abeenyweza eri Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu ng'akyali muto n'omutima gwe nga mugonvu, so nga tayinza kubaziyiza. 14C2H013.008 And now ye think to withstand the kingdom of the LORD in the hand of the sons of David; and ye be a great multitude, and there are with you golden calves, which Jeroboam made you for gods. %%% Awo kaakano mulowooza okuziyiza obwakabaka bwa Mukama mu mukono gwe batabani ba Dawudi; era muli kibiina kinene, era waliwo nammwe ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda. 14C2H013.009 Have ye not cast out the priests of the LORD, the sons of Aaron, and the Levites, and have made you priests after the manner of the nations of other lands? so that whosoever cometh to consecrate himself with a young bullock and seven rams, the same may be a priest of them that are no gods. %%% Temwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'empisa bw'eri ey'amawanga ag'omu nsi endala? kale buli ajja okwetukuza ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, oyo ayinza okuba kaboa w'abo abatali bakatonda. 14C2H013.010 But as for us, the LORD is our God, and we have not forsaken him; and the priests, which minister unto the LORD, are the sons of Aaron, and the Levites wait upon their business: %%% Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, naffe tetumuvangako; era (tulina) bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, mu mulimu gwabwe: 14C2H013.011 And they burn unto the LORD every morning and every evening burnt sacrifices and sweet incense: the shewbread also set they in order upon the pure table; and the candlestick of gold with the lamps thereof, to burn every evening: for we keep the charge of the LORD our God; but ye have forsaken him. %%% era bookya eri Mukama buli nkya na buli kawungeezi ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu: n'emigaati egy'okulaga nagyo bagiteekateeka ku mmeeza ennongoofu: n'ekikondo ekya zaabu n'ettabaaza zaakyo, okwakanga buli kawungeezi: kubanga ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira; naye mmwe mwamuvaako. 14C2H013.012 And, behold, God himself is with us for our captain, and his priests with sounding trumpets to cry alarm against you. O children of Israel, fight ye not against the LORD God of your fathers; for ye shall not prosper. %%% Era, laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be nga balina amakondeere agalawa, okugalaya okulwana nammwe. Ai abaana ba Isiraeri, temulwana ne Mukama Katonda wa bajjajjammwe; kubanga temuulabe mukisa. 14C2H013.013 But Jeroboam caused an ambushment to come about behind them: so they were before Judah, and the ambushment was behind them. %%% Naye Yerobowaamu n'abafulumya ennyuma abateezi: awo ne baba mu maaso ga Yuda, abateezi ne baba ennyuma waabwe. 14C2H013.014 And when Judah looked back, behold, the battle was before and behind: and they cried unto the LORD, and the priests sounded with the trumpets. %%% Awo Yuda bwe baakebuka, laba, olutalo nga lubafulumye mu maaso n'ennyuma: ne bakaabira Mukama, bakabona ne bafuuwa amakondeere. 14C2H013.015 Then the men of Judah gave a shout: and as the men of Judah shouted, it came to pass, that God smote Jeroboam and all Israel before Abijah and Judah. %%% Awo abasajja ba Yuda ne boogerera waggulu: awo abasajja ba Yuda nga boogerera waggulu, olwatuuka Katonda n'akuba Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. 14C2H013.016 And the children of Israel fled before Judah: and God delivered them into their hand. %%% Abaana ba Isiraeri ne badduka mu maaso ga Yuda: Katonda n'abagabula mu mukono gwabwe. 14C2H013.017 And Abijah and his people slew them with a great slaughter: so there fell down slain of Israel five hundred thousand chosen men. %%% Abiya n'abantu be ne babatta olutta olunene: n'okugwa ne kugwa ku Isiraeri nga battiddwa abasajja abalonde obusiriivu butaano. 14C2H013.018 Thus the children of Israel were brought under at that time, and the children of Judah prevailed, because they relied upon the LORD God of their fathers. %%% Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mu biro ebyo, abaana ba Yuda ne basinga, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 14C2H013.019 And Abijah pursued after Jeroboam, and took cities from him, Bethel with the towns thereof, and Jeshanah with the towns thereof, and Ephrain with the towns thereof. %%% Abiya n'ayigganya Yerobowaamu, n'amuggyako ebibuga, Beseri n'ebibuga byako, ne Yesana n'ebibuga byako, ne Efulooni n'ebibuga byako. 14C2H013.020 Neither did Jeroboam recover strength again in the days of Abijah: and the LORD struck him, and he died. %%% So Yerobowaamu teyafuna nate amaanyi ku mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa. 14C2H013.021 But Abijah waxed mighty, and married fourteen wives, and begat twenty and two sons, and sixteen daughters. %%% Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'ab'obuwala kkumi na mukaaga. 14C2H013.022 And the rest of the acts of Abijah, and his ways, and his sayings, are written in the story of the prophet Iddo. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'amakubo ge n'ebigambo bye byawandiikibwa mu bitegeeza bya nnabbi Iddo. 14C2H014.001 So Abijah slept with his fathers, and they buried him in the city of David: and Asa his son reigned in his stead. In his days the land was quiet ten years. %%% Awo Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'etereerera emyaka kkumi. 14C2H014.002 And Asa did that which was good and right in the eyes of the LORD his God: %%% Asa n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga: 14C2H014.003 For he took away the altars of the strange gods, and the high places, and brake down the images, and cut down the groves: %%% kubanga yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n'ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n’atemaatema ba Asera; 14C2H014.004 And commanded Judah to seek the LORD God of their fathers, and to do the law and the commandment. %%% n'alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okukwata amateeka n'ekiragiro. 14C2H014.005 Also he took away out of all the cities of Judah the high places and the images: and the kingdom was quiet before him. %%% Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda ebifo ebigulumivu n'ebifaananyi by'enjuba: obwakabaka ne butereera mu maaso ge. 14C2H014.006 And he built fenced cities in Judah: for the land had rest, and he had no war in those years; because the LORD had given him rest. %%% N'azimba ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: kubanga ensi yali eteredde so teyalina ntalo mu myaka egyo; kubanga Mukama yamuwa okuwummula. 14C2H014.007 Therefore he said unto Judah, Let us build these cities, and make about them walls, and towers, gates, and bars, while the land is yet before us; because we have sought the LORD our God, we have sought him, and he hath given us rest on every side. So they built and prospered. %%% Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n'ebigo, enzigi n'ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa. 14C2H014.008 And Asa had an army of men that bare targets and spears, out of Judah three hundred thousand; and out of Benjamin, that bare shields and drew bows, two hundred and fourscore thousand: all these were mighty men of valour. %%% Era Asa yalina eggye abaakwatanga engabo n'amafumu, abaava mu Yuda obusiriivu busatu; n'abaava mu Benyamini abaakwatanga engabo ne banaanuula emitego, obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: abo bonna basajja ba maanyi abazira. 14C2H014.009 And there came out against them Zerah the Ethiopian with an host of a thousand thousand, and three hundred chariots; and came unto Mareshah. %%% Zeera Omwesiyopya n'abatabaala ng'alina eggye kakadde n'amagaaii ebikumi bisatu; n'ajja e Malesa. 14C2H014.010 Then Asa went out against him, and they set the battle in array in the valley of Zephathah at Mareshah. %%% Awo Asa n'afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa. 14C2H014.011 And Asa cried unto the LORD his God, and said, LORD, it is nothing with thee to help, whether with many, or with them that have no power: help us, O LORD our God; for we rest on thee, and in thy name we go against this multitude. O LORD, thou art our God; let not man prevail against thee. %%% Asa n'akaabira Mukama Katonda we n'ayogera nti Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w'abalina (abalwanyi) abangi, n'abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga. 14C2H014.012 So the LORD smote the Ethiopians before Asa, and before Judah; and the Ethiopians fled. %%% Awo Mukama n'akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka. 14C2H014.013 And Asa and the people that were with him pursued them unto Gerar: and the Ethiopians were overthrown, that they could not recover themselves; for they were destroyed before the LORD, and before his host; and they carried away very much spoil. %%% Asa n'abantu be abaali naye ne babacocca ne babatuusa e Gerali: ne kugwa ku Baesiyopya bangi bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kuddamu amaanyi; kubanga baazikirizibwa mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'eggye lye; ne banyaga omunyago mungi nnyo. 14C2H014.014 And they smote all the cities round about Gerar; for the fear of the LORD came upon them: and they spoiled all the cities; for there was exceeding much spoil in them. %%% Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali; kubanga entiisa ya Mukama yabatuukako: ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi. 14C2H014.015 They smote also the tents of cattle, and carried away sheep and camels in abundance, and returned to Jerusalem. %%% Era ne bakuba eweema ez'ente, ne banyaga endiga nnyingi nnyo n'eŋŋamira, ne baddayo e Yerusaalemi. 14C2H015.001 And the Spirit of God came upon Azariah the son of Oded: %%% Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi: 14C2H015.002 And he went out to meet Asa, and said unto him, Hear ye me, Asa, and all Judah and Benjamin; The LORD is with you, while ye be with him; and if ye seek him, he will be found of you; but if ye forsake him, he will forsake you. %%% n'afuluma okusisinkana Asa n'amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe. 14C2H015.003 Now for a long season Israel hath been without the true God, and without a teaching priest, and without law. %%% Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow'amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina mateeka: 14C2H015.004 But when they in their trouble did turn unto the LORD God of Israel, and sought him, he was found of them. %%% naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba. 14C2H015.005 And in those times there was no peace to him that went out, nor to him that came in, but great vexations were upon all the inhabitants of the countries. %%% Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo. 14C2H015.006 And nation was destroyed of nation, and city of city: for God did vex them with all adversity. %%% Ne bamenyekamenyeka, eggwanga nga lirumba ggwanga linnaalyo, n'ekibuga nga kirumba kibuga kinnaakyo: kubanga Katonda yabeeraliikiriza ng'abalabya ennaku zonna. 14C2H015.007 Be ye strong therefore, and let not your hands be weak: for your work shall be rewarded. %%% Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu awammwe guliweebwa empeera. 14C2H015.008 And when Asa heard these words, and the prophecy of Oded the prophet, he took courage, and put away the abominable idols out of all the land of Judah and Benjamin, and out of the cities which he had taken from mount Ephraim, and renewed the altar of the LORD, that was before the porch of the LORD. %%% Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n'aguma omwoyo n'aggyawo eby'emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey'ensozi eya Efulayimu; n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g'ekisasi kya Mukama. 14C2H015.009 And he gathered all Judah and Benjamin, and the strangers with them out of Ephraim and Manasseh, and out of Simeon: for they fell to him out of Israel in abundance, when they saw that the LORD his God was with him. %%% N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n'abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye. 14C2H015.010 So they gathered themselves together at Jerusalem in the third month, in the fifteenth year of the reign of Asa. %%% Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka, ogw'ekkumi n'etaano ogw'okufuga kwa Asa. 14C2H015.011 And they offered unto the LORD the same time, of the spoil which they had brought, seven hundred oxen and seven thousand sheep. %%% Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n'endiga kasanvu. 14C2H015.012 And they entered into a covenant to seek the LORD God of their fathers with all their heart and with all their soul; %%% Ne bayingira mu ndagaano okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna; 14C2H015.013 That whosoever would not seek the LORD God of Israel should be put to death, whether small or great, whether man or woman. %%% era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi. 14C2H015.014 And they sware unto the LORD with a loud voice, and with shouting, and with trumpets, and with cornets. %%% Ne balayirira Mukama n'eddoboozi ddene n'okwogerera waggulu n'amakondeere n'eŋŋombe. 14C2H015.015 And all Judah rejoiced at the oath: for they had sworn with all their heart, and sought him with their whole desire; and he was found of them: and the LORD gave them rest round about. %%% Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya n'okwagala kwabwe kwonna; ne bamulaba: Mukama n'abawa okuwummula enjuyi zonna. 14C2H015.016 And also concerning Maachah the mother of Asa the king, he removed her from being queen, because she had made an idol in a grove: and Asa cut down her idol, and stamped it, and burnt it at the brook Kidron. %%% Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n'amugoba mu bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akifuula nfuufu n'akyokera ku kagga Kidulooni. 14C2H015.017 But the high places were not taken away out of Israel: nevertheless the heart of Asa was perfect all his days. %%% Naye ebifo ebigulumivu ebyaggibwawo mu Isiraeri: naye mutima gwa Asa gwatuukirira ennaku ze zonna. 14C2H015.018 And he brought into the house of God the things that his father had dedicated, and that he himself had dedicated, silver, and gold, and vessels. %%% N'ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu. 14C2H015.019 And there was no more war unto the five and thirtieth year of the reign of Asa. %%% Ne watabanga ntalo nate okutuusa omwaka ogw'asatu mu etaano ogwa Asa. 14C2H016.001 In the six and thirtieth year of the reign of Asa Baasha king of Israel came up against Judah, and built Ramah, to the intent that he might let none go out or come in to Asa king of Judah. %%% Awo mu mwaka ogw'asatu mu mukaaga ogw'okufuga kwa Asa, Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda. 14C2H016.002 Then Asa brought out silver and gold out of the treasures of the house of the LORD and of the king's house, and sent to Benhadad king of Syria, that dwelt at Damascus, saying, %%% Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atumira Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti 14C2H016.003 There is a league between me and thee, as there was between my father and thy father: behold, I have sent thee silver and gold; go, break thy league with Baasha king of Israel, that he may depart from me. %%% Waliwo endagaano eri nze naawe, nga bwe yali eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ffeeza n'ezaabu: genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko. 14C2H016.004 And Benhadad hearkened unto king Asa, and sent the captains of his armies against the cities of Israel; and they smote Ijon, and Dan, and Abelmaim, and all the store cities of Naphtali. %%% Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri; ne bakuba Iyoni ne Ddaani ne Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu ebya Nafutaali. 14C2H016.005 And it came to pass, when Baasha heard it, that he left off building of Ramah, and let his work cease. %%% Awo lolwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'akomya omulimu gwe. 14C2H016.006 Then Asa the king took all Judah; and they carried away the stones of Ramah, and the timber thereof, wherewith Baasha was building; and he built therewith Geba and Mizpah. %%% Awo kabaka Asa n'amenya Yuda yenna; ne baggyawo amayinja ag'e Laama n'emiti gyakyo. Baasa bye yazimbya; n'abizimbya Geba ne Mizupa. 14C2H016.007 And at that time Hanani the seer came to Asa king of Judah, and said unto him, Because thou hast relied on the king of Syria, and not relied on the LORD thy God, therefore is the host of the king of Syria escaped out of thine hand. %%% Era mu biro ebyo Kanani omulabi n'ajja eri Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w'e Busuuli kye livudde liwona mu mukono gwo. 14C2H016.008 Were not the Ethiopians and the Lubims a huge host, with very many chariots and horsemen? yet, because thou didst rely on the LORD, he delivered them into thine hand. %%% Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga baalina amagaali n'abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? naye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo. 14C2H016.009 For the eyes of the LORD run to and fro throughout the whole earth, to shew himself strong in the behalf of them whose heart is perfect toward him. Herein thou hast done foolishly: therefore from henceforth thou shalt have wars. %%% Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw'ali ow'amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy'ali. Mu kino okoze eky'obusirusiru; olw'ekyo okuva leero ojja kubanga n'entalo. 14C2H016.010 Then Asa was wroth with the seer, and put him in a prison house; for he was in a rage with him because of this thing. And Asa oppressed some of the people the same time. %%% Awo Asa n'alyoka asunguwalira omulabi, n'amuteeka mu nju ey'ekkomera; kubanga yali amuliko ekiruyi olw'ekigambo ekyo. Asa n'ajooga abamu ku bantu mu biro ebyo. 14C2H016.011 And, behold, the acts of Asa, first and last, lo, they are written in the book of the kings of Judah and Israel. %%% Era, laba, ebikolwa bya Asa ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri. 14C2H016.012 And Asa in the thirty and ninth year of his reign was diseased in his feet, until his disease was exceeding great: yet in his disease he sought not to the LORD, but to the physicians. %%% Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo. 14C2H016.013 And Asa slept with his fathers, and died in the one and fortieth year of his reign. %%% Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'afiira mu mwaka ogw'ana mu gumu ogw'okufuga kwe. 14C2H016.014 And they buried him in his own sepulchres, which he had made for himself in the city of David, and laid him in the bed which was filled with sweet odours and divers kinds of spices prepared by the apothecaries' art: and they made a very great burning for him. %%% Ne bamuziika mu ntaana ze ye ze yeebajjira mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyajjula eby'akaloosa ebiwoomerevu n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa: ne bamunyookereza bingi nnyo nnyini. 14C2H017.001 And Jehoshaphat his son reigned in his stead, and strengthened himself against Israel. %%% Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye, ne yeenyweza okulwana ne Isiraeri. 14C2H017.002 And he placed forces in all the fenced cities of Judah, and set garrisons in the land of Judah, and in the cities of Ephraim, which Asa his father had taken. %%% N'ateeka eggye mu bibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yalya. 14C2H017.003 And the LORD was with Jehoshaphat, because he walked in the first ways of his father David, and sought not unto Baalim; %%% Mukama n'aba ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu makubo ag'olubereberye aga kitaawe Dawudi n’atagenda eri ba Baali; 14C2H017.004 But sought to the Lord God of his father, and walked in his commandments, and not after the doings of Israel. %%% naye n'agendanga eri Katonda wa kitaawe, n'atambulira mu mateeka ge so si ng'ebikolwa bya Isiraeri bwe byali. 14C2H017.005 Therefore the LORD stablished the kingdom in his hand; and all Judah brought to Jehoshaphat presents; and he had riches and honour in abundance. %%% Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo. 14C2H017.006 And his heart was lifted up in the ways of the LORD: moreover he took away the high places and groves out of Judah. %%% Omutima gwe ne gugulumizibwa mu makubo ga Mukama: era n'aggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda. 14C2H017.007 Also in the third year of his reign he sent to his princes, even to Benhail, and to Obadiah, and to Zechariah, and to Nethaneel, and to Michaiah, to teach in the cities of Judah. %%% Era mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'atuma abakungu be, Benikayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda; 14C2H017.008 And with them he sent Levites, even Shemaiah, and Nethaniah, and Zebadiah, and Asahel, and Shemiramoth, and Jehonathan, and Adonijah, and Tobijah, and Tobadonijah, Levites; and with them Elishama and Jehoram, priests. %%% era wamu nabo Abaleevi, Semaaya ne Nesaniya ne Zebadiya ne Asakeri ne Semiramoosi ne Yekonasaani ne Adoniya ne Tobbiya ne Tobadoniya, Abaleevi; era wamu nabo Erisaama ne Yekolaamu, bakabona. 14C2H017.009 And they taught in Judah, and had the book of the law of the LORD with them, and went about throughout all the cities of Judah, and taught the people. %%% Ne bayigiriza mu Yuda nga balina ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu. 14C2H017.010 And the fear of the LORD fell upon all the kingdoms of the lands that were round about Judah, so that they made no war against Jehoshaphat. %%% Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, n'okulwana ne batalwana ne Yekosafaati. 14C2H017.011 Also some of the Philistines brought Jehoshaphat presents, and tribute silver; and the Arabians brought him flocks, seven thousand and seven hundred rams, and seven thousand and seven hundred he goats. %%% Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo ne ffeeza okuba omusolo; era n'Abawalabu ne bamuleetera embuzi, endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu. 14C2H017.012 And Jehoshaphat waxed great exceedingly; and he built in Judah castles, and cities of store. %%% Yekosafaati n'aba mukulu nnyo nnyini; n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'okuterekeramu. 14C2H017.013 And he had much business in the cities of Judah: and the men of war, mighty men of valour, were in Jerusalem. %%% Era yalina emirimu mingi mu bibuga bya Yuda; n'abasajja abalwanyi n'abasajja ab'amaanyi abazira mu Yerusaalemi. 14C2H017.014 And these are the numbers of them according to the house of their fathers: Of Judah, the captains of thousands; Adnah the chief, and with him mighty men of valour three hundred thousand. %%% Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; ku Yuda abaami b'enkumi; Aduna omwami, era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu busatu: 14C2H017.015 And next to him was Jehohanan the captain, and with him two hundred and fourscore thousand. %%% n'eyamuddirira Yekakanani omwami, era wamu naye obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: 14C2H017.016 And next him was Amasiah the son of Zichri, who willingly offered himself unto the LORD; and with him two hundred thousand mighty men of valour. %%% n'eyamuddirira Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe eri Mukama; era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu bubiri: 14C2H017.017 And of Benjamin; Eliada a mighty man of valour, and with him armed men with bow and shield two hundred thousand. %%% ne ku Benyamini; Eriyada omusajja ow'amaanyi omuzira, era wamu naye obusiriivu bubiri, abaakwatanga emitego n'engabo: 14C2H017.018 And next him was Jehozabad, and with him an hundred and fourscore thousand ready prepared for the war. %%% n'eyamuddirira Yekozabadi, era wamu naye akasiriivu mu obukumi munaana, abeeteeseteese okulwana. 14C2H017.019 These waited on the king, beside those whom the king put in the fenced cities throughout all Judah. %%% Abo be baaweerezanga kabaka, obutassaako abo kabaka be yateeka mu bibuga ebyaliko enkomera okubuna Yuda yonna. 14C2H018.001 Now Jehoshaphat had riches and honour in abundance, and joined affinity with Ahab. %%% Era Yekosafaati yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini; n'afuuka mukoddomi wa Akabu. 14C2H018.002 And after certain years he went down to Ahab to Samaria. And Ahab killed sheep and oxen for him in abundance, and for the people that he had with him, and persuaded him to go up with him to Ramothgilead. %%% Awo emyaka bwe gyayitawo n'aserengeta eri Akabu e Samaliya. Akabu n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu abaali naye, n'amusemberera okutabaala e Lamosugireyaadi (wamu naye). 14C2H018.003 And Ahab king of Israel said unto Jehoshaphat king of Judah, Wilt thou go with me to Ramothgilead? And he answered him, I am as thou art, and my people as thy people; and we will be with thee in the war. %%% Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati kabaka wa Yuda nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi? Awo n'amuddamu nti Nze ninga ggwe bw'oli, n'abantu bange ng'abantu bo; era (tunaabanga) wamu naawe mu ntalo ezo. 14C2H018.004 And Jehoshaphat said unto the king of Israel, Enquire, I pray thee, at the word of the LORD to day. %%% Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, buuza ekigambo kya Mukama leero. 14C2H018.005 Therefore the king of Israel gathered together of prophets four hundred men, and said unto them, Shall we go to Ramothgilead to battle, or shall I forbear? And they said, Go up; for God will deliver it into the king's hand. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ebikumi bina, n'abagamba nti Tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Katonda alikigabula mu mukono gwa kabaka. 14C2H018.006 But Jehoshaphat said, Is there not here a prophet of the LORD besides, that we might enquire of him? %%% Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuzeeko? 14C2H018.007 And the king of Israel said unto Jehoshaphat, There is yet one man, by whom we may enquire of the LORD: but I hate him; for he never prophesied good unto me, but always evil: the same is Micaiah the son of Imla. And Jehoshaphat said, Let not the king say so. %%% Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama: naye mmukyawa; kubanga tandagulangako birungi wabula ebibi ebyereere; oyo ye Mikaaya mutabani wa Imula. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo. 14C2H018.008 And the king of Israel called for one of his officers, and said, Fetch quickly Micaiah the son of Imla. %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula. 14C2H018.009 And the king of Israel and Jehoshaphat king of Judah sat either of them on his throne, clothed in their robes, and they sat in a void place at the entering in of the gate of Samaria; and all the prophets prophesied before them. %%% Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, nga batudde mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagula mu maaso gaabwe. 14C2H018.010 And Zedekiah the son of Chenaanah had made him horns of iron, and said, Thus saith the LORD, With these thou shalt push Syria until they be consumed. %%% Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo. 14C2H018.011 And all the prophets prophesied so, saying, Go up to Ramothgilead, and prosper: for the LORD shall deliver it into the hand of the king. %%% Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. 14C2H018.012 And the messenger that went to call Micaiah spake to him, saying, Behold, the words of the prophets declare good to the king with one assent; let thy word therefore, I pray thee, be like one of theirs, and speak thou good. %%% Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba, ebigambo bya bannabbi bimubuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi. 14C2H018.013 And Micaiah said, As the LORD liveth, even what my God saith, that will I speak. %%% Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaagamba, ekyo kye nnaayogera. 14C2H018.014 And when he was come to the king, the king said unto him, Micaiah, shall we go to Ramothgilead to battle, or shall I forbear? And he said, Go ye up, and prosper, and they shall be delivered into your hand. %%% Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? N'ayogera nti Mwambuke mulabe omukisa; era baligabulwa mu mukono gwammwe. 14C2H018.015 And the king said to him, How many times shall I adjure thee that thou say nothing but the truth to me in the name of the LORD? %%% Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n'ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama? 14C2H018.016 Then he said, I did see all Israel scattered upon the mountains, as sheep that have no shepherd: and the LORD said, These have no master; let them return therefore every man to his house in peace. %%% N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe: baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe. 14C2H018.017 And the king of Israel said to Jehoshaphat, Did I not tell thee that he would not prophesy good unto me, but evil? %%% Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Sikugambye nga taalagule birungi eri nze wabula ebibi? 14C2H018.018 Again he said, Therefore hear the word of the LORD; I saw the LORD sitting upon his throne, and all the host of heaven standing on his right hand and on his left. %%% N'ayogera nti Kale muwulire ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 14C2H018.019 And the LORD said, Who shall entice Ahab king of Israel, that he may go up and fall at Ramothgilead? And one spake saying after this manner, and another saying after that manner. %%% Mukama n'ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri ayambuke e Lamosugireyaadi agwe; Omu n'ayogera bwatyo; omulala n'ayogera bw'atyo. 14C2H018.020 Then there came out a spirit, and stood before the LORD, and said, I will entice him. And the LORD said unto him, Wherewith? %%% Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze nnaamusendasenda. 14C2H018.021 And he said, I will go out, and be a lying spirit in the mouth of all his prophets. And the Lord said, Thou shalt entice him, and thou shalt also prevail: go out, and do even so. %%% Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. N'ayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma, okole bw'otyo. 14C2H018.022 Now therefore, behold, the LORD hath put a lying spirit in the mouth of these thy prophets, and the LORD hath spoken evil against thee. %%% Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano; era Mukama akwogeddeko akabi. 14C2H018.023 Then Zedekiah the son of Chenaanah came near, and smote Micaiah upon the cheek, and said, Which way went the Spirit of the LORD from me to speak unto thee? %%% Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'amukuba Mikaaya ku matama, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe. 14C2H018.024 And Micaiah said, Behold, thou shalt see on that day when thou shalt go into an inner chamber to hide thyself. %%% Mikaaya n'ayogera nti Laba, oliraba ku lunaku olwo bw'oliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka. 14C2H018.025 Then the king of Israel said, Take ye Micaiah, and carry him back to Amon the governor of the city, and to Joash the king's son; %%% Awo kabaka wa Isiraeri n’ayogera nti Mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka; 14C2H018.026 And say, Thus saith the king, Put this fellow in the prison, and feed him with bread of affliction and with water of affliction, until I return in peace. %%% mwogere nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe. 14C2H018.027 And Micaiah said, If thou certainly return in peace, then hath not the LORD spoken by me. And he said, Hearken, all ye people. %%% Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna. 14C2H018.028 So the king of Israel and Jehoshaphat the king of Judah went up to Ramothgilead. %%% Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 14C2H018.029 And the king of Israel said unto Jehoshaphat, I will disguise myself, and will go to the battle; but put thou on thy robes. So the king of Israel disguised himself; and they went to the battle. %%% Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula ne bayingira mu lutalo. 14C2H018.030 Now the king of Syria had commanded the captains of the chariots that were with him, saying, Fight ye not with small or great, save only with the king of Israel. %%% Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami b'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka. 14C2H018.031 And it came to pass, when the captains of the chariots saw Jehoshaphat, that they said, It is the king of Israel. Therefore they compassed about him to fight: but Jehoshaphat cried out, and the LORD helped him; and God moved them to depart from him. %%% Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; kyebaava bakyama okulwana naye: naye Yekosafaati n'ayogerera waggulu, Mukama n'amuyamba; Katonda n'abamuggyako. 14C2H018.032 For it came to pass, that, when the captains of the chariots perceived that it was not the king of Israel, they turned back again from pursuing him. %%% Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, kale ne bakomawo okumugoberera. 14C2H018.033 And a certain man drew a bow at a venture, and smote the king of Israel between the joints of the harness: therefore he said to his chariot man, Turn thine hand, that thou mayest carry me out of the host; for I am wounded. %%% Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumitiddwa nnyo. 14C2H018.034 And the battle increased that day: howbeit the king of Israel stayed himself up in his chariot against the Syrians until the even: and about the time of the sun going down he died. %%% Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: naye kabaka wa Isiraeri ne yeekakaabiriza mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, okutuusa akawungeezi: awo enjuba bwe yali ng'egwa n'afa. 14C2H019.001 And Jehoshaphat the king of Judah returned to his house in peace to Jerusalem. %%% Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n'akomawo mu nnyumba ye mirembe e Yerusaalemi. 14C2H019.002 And Jehu the son of Hanani the seer went out to meet him, and said to king Jehoshaphat, Shouldest thou help the ungodly, and love them that hate the LORD? therefore is wrath upon thee from before the LORD. %%% Yeeku mutabani wa Kanani omulabi n'afuluma okumusisinkana n'agamba kabaka Yekosafaati nti Kirungi ggwe okuyamba ababi n'obaagala abo abakyawa Mukama? olw'ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama. 14C2H019.003 Nevertheless there are good things found in thee, in that thou hast taken away the groves out of the land, and hast prepared thine heart to seek God. %%% Naye mu ggwe mulabise ebirungi, kubanga waggyawo Baaserosi mu nsi, n'okakasa omutima gwo okunoonya Katonda. 14C2H019.004 And Jehoshaphat dwelt at Jerusalem: and he went out again through the people from Beersheba to mount Ephraim, and brought them back unto the LORD God of their fathers. %%% Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi: n'afuluma nate mu bantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 14C2H019.005 And he set judges in the land throughout all the fenced cities of Judah, city by city, %%% N'assaawo abalamuzi mu nsi okubuna ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, buli kibuga kinnakimu, 14C2H019.006 And said to the judges, Take heed what ye do: for ye judge not for man, but for the LORD, who is with you in the judgment. %%% n'agamba abalamuzi nti Mulowooze bye mukola: kubanga temulamulira bantu wabula Mukama; era ye ali wamu nammwe mu kusala emisango. 14C2H019.007 Wherefore now let the fear of the LORD be upon you; take heed and do it: for there is no iniquity with the LORD our God, nor respect of persons, nor taking of gifts. %%% Kale nno entiisa ya Mukama ebeere ku mmwe; mwekuume mukole bwe mutyo: kubanga tewali butali butuukirivu eri Mukama Katonda waffe newakubadde okusosola mu bantu newakubadde okulya enguzi. 14C2H019.008 Moreover in Jerusalem did Jehoshaphat set of the Levites, and of the priests, and of the chief of the fathers of Israel, for the judgment of the LORD, and for controversies, when they returned to Jerusalem. %%% Era mu Yerusaalemi Yekosafaati mwe yassa ku Baleevi ne bakabona ne ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri olw'okulamula kwa Mukama n'olw'empaka. Ne bakomawo e Yerusaalemi. 14C2H019.009 And he charged them, saying, Thus shall ye do in the fear of the LORD, faithfully, and with a perfect heart. %%% Awo n'abakuutira ng'ayogera nti Bwe mutyo bwe muba mukola mu ntiisa ya Mukama n'obwesigwa era n'omutima ogwatuukirira. 14C2H019.010 And what cause soever shall come to you of your brethren that dwell in their cities, between blood and blood, between law and commandment, statutes and judgments, ye shall even warn them that they trespass not against the LORD, and so wrath come upon you, and upon your brethren: this do, and ye shall not trespass. %%% Era baganda bammwe abali mu bibuga byabwe bwe banaaleetanga gye muli okukaayana kwonna, eruuyi omusaayi n'eruuyi omusaayi, eruuyi etteeka n'eruuyi ekiragiro, eruuyi ebyakuutirwa n'eruuyi emisango, munaabalabulanga baleme okuzza omusango eri Mukama, obusungu ne bujja bwe butyo ku mmwe ne ku baganda bammwe: mukolenga bwe mutyo obutabaako musango. 14C2H019.011 And, behold, Amariah the chief priest is over you in all matters of the LORD; and Zebadiah the son of Ishmael, the ruler of the house of Judah, for all the king's matters: also the Levites shall be officers before you. Deal courageously, and the LORD shall be with the good. %%% Era, laba, Amaliya kabona omukulu yabafuga mu bigambo byonna ebya Mukama; ne Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu w'ennyumba ya Yuda, mu bigambo byonna ebya kabaka: era n'Abaleevi banaabanga baami mu maaso gammwe. Mube n'amaanyi mukole, era Mukama ayambenga abakozi b'obulungi. 14C2H020.001 It came to pass after this also, that the children of Moab, and the children of Ammon, and with them other beside the Ammonites, came against Jehoshaphat to battle. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo abaana ba Mowaabu n'abaana ba Amoni era wamu nabo abamu ku Bamoni ne batabaala Yekosafaati okulwana naye. 14C2H020.002 Then there came some that told Jehoshaphat, saying, There cometh a great multitude against thee from beyond the sea on this side Syria; and, behold, they be in Hazazontamar, which is Engedi. %%% Awo ne wajja abantu abaamugamba Yekosafaati nti Eggye ddene likutabadde eriva emitala w'ennyanja e Busuuli; era, laba, bali mu Kazazonutamali (ye Engedi). 14C2H020.003 And Jehoshaphat feared, and set himself to seek the LORD, and proclaimed a fast throughout all Judah. %%% Yekosafaati n'atya ne yeeteekateeka okunoonya Mukama; n'alangira okusiiba mu Yuda yonna. 14C2H020.004 And Judah gathered themselves together, to ask help of the LORD: even out of all the cities of Judah they came to seek the LORD. %%% Yuda ne bakuŋŋaana okunoonya okubeerwa eri Mukama: baaviira ddala mu bibuga byonna ebya Yuda okunoonya Mukama. 14C2H020.005 And Jehoshaphat stood in the congregation of Judah and Jerusalem, in the house of the LORD, before the new court, %%% Yekosafaati n'ayimirira mu kkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya oluggya; 14C2H020.006 And said, O LORD God of our fathers, art not thou God in heaven? and rulest not thou over all the kingdoms of the heathen? and in thine hand is there not power and might, so that none is able to withstand thee? %%% n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa bajjajjaffe, toli Katonda mu ggulu? era si ggwe ofuga obwakabaka bwonna obw'amawanga? ne mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi n'okubaawo ne watabaawo ayinza okukuziyiza. 14C2H020.007 Art not thou our God, who didst drive out the inhabitants of this land before thy people Israel, and gavest it to the seed of Abraham thy friend for ever? %%% Ai Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna? 14C2H020.008 And they dwelt therein, and have built thee a sanctuary therein for thy name, saying, %%% Ne babeera omwo, era bakuzimbidde omwo ekiggwa olw'erinnya lyo, nga boogera nti 14C2H020.009 If, when evil cometh upon us, as the sword, judgment, or pestilence, or famine, we stand before this house, and in thy presence, (for thy name is in this house,) and cry unto thee in our affliction, then thou wilt hear and help. %%% Obubi bwe bunaatutuukangako, ekitala, omusango, oba lumbe oba njala, tunaayimiriranga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, (kubanga erinnya lyo liri mu nnyumba eno,) ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola. 14C2H020.010 And now, behold, the children of Ammon and Moab and mount Seir, whom thou wouldest not let Israel invade, when they came out of the land of Egypt, but they turned from them, and destroyed them not; %%% Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okutabaala bwe baava mu nsi y'e Misiri, naye ne bakyama okubavaako ne batabazikiriza; 14C2H020.011 Behold, I say, how they reward us, to come to cast us out of thy possession, which thou hast given us to inherit. %%% laba, bwe batusasula, okujja okutugoba mu butaka bwo bw'otuwadde okulya. 14C2H020.012 O our God, wilt thou not judge them? for we have no might against this great company that cometh against us; neither know we what to do: but our eyes are upon thee. %%% Ai Katonda waffe, tolibasalira musango? kubanga tetulina maanyi n'akatono eri eggye lino eddene eritutabadde: so tetumanyi bwe tuba tukola; naye amaaso gaffe gakutunuulira ggwe. 14C2H020.013 And all Judah stood before the LORD, with their little ones, their wives, and their children. %%% Yuda yenna ne bayimirira mu maaso ga Mukama nga balina abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe. 14C2H020.014 Then upon Jahaziel the son of Zechariah, the son of Benaiah, the son of Jeiel, the son of Mattaniah, a Levite of the sons of Asaph, came the Spirit of the LORD in the midst of the congregation; %%% Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Benaya mutabani wa Yeyeri mutabani wa Mattaniya Omuleevi ow'oku batabani ba Asafu wakati mu kibiina; 14C2H020.015 And he said, Hearken ye, all Judah, and ye inhabitants of Jerusalem, and thou king Jehoshaphat, Thus saith the LORD unto you, Be not afraid nor dismayed by reason of this great multitude; for the battle is not yours, but God's. %%% n'ayogera nti Muwulire, mmwe Abayuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abagamba Mukama nti Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda. 14C2H020.016 To morrow go ye down against them: behold, they come up by the cliff of Ziz; and ye shall find them at the end of the brook, before the wilderness of Jeruel. %%% Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bambukira awalinnyirwa e Zizi; nammwe mulibasanga ekiwonvu we kisibuka mu maaso g'eddungu Yerweri. 14C2H020.017 Ye shall not need to fight in this battle: set yourselves, stand ye still, and see the salvation of the LORD with you, O Judah and Jerusalem: fear not, nor be dismayed; to morrow go out against them: for the LORD will be with you. %%% Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno: mwesimbe muyimirire buyimirizi mulabe obulokozi bwa Mukama obuli nammwe, ggwe Yuda ne Yerusaalemi: temutya so temukeŋŋentererwa: enkya mubatabaale; kubanga Mukama ali nammwe. 14C2H020.018 And Jehoshaphat bowed his head with his face to the ground: and all Judah and the inhabitants of Jerusalem fell before the LORD, worshipping the LORD. %%% Awo Yekosafaati n'avuunama amaaso ge ku ttaka: ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, nga basinza Mukama. 14C2H020.019 And the Levites, of the children of the Kohathites, and of the children of the Korhites, stood up to praise the LORD God of Israel with a loud voice on high. %%% Abaleevi ab'oku baana b'Abakokasi n'ab'oku baana b'Abakola ne bayimirira okutendereza Mukama Katonda wa Isiraeri n'eddoboozi ddene nnyo nnyini. 14C2H020.020 And they rose early in the morning, and went forth into the wilderness of Tekoa: and as they went forth, Jehoshaphat stood and said, Hear me, O Judah, and ye inhabitants of Jerusalem; Believe in the LORD your God, so shall ye be established; believe his prophets, so shall ye prosper. %%% Ne bagolokoka enkya mu makya ne bafuluma mu ddungu ery'e Tekowa: awo bwe baali nga bafuluma Yekosafaati n’ayimirira n'ayogera nti Mumpulire, mmwe Abayuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi; mukkirize Mukama Katonda wammwe, bwe mutyo bwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, bwe mutyo bwe munaalaba omukisa. 14C2H020.021 And when he had consulted with the people, he appointed singers unto the LORD, and that should praise the beauty of holiness, as they went out before the army, and to say, Praise the LORD; for his mercy endureth for ever. %%% Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obulungi bw'obutukuvu nga bafuluma nga bakulembedde eggye ne boogera nti Mwebaze Mukama; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 14C2H020.022 And when they began to sing and to praise, the LORD set ambushments against the children of Ammon, Moab, and mount Seir, which were come against Judah; and they were smitten. %%% Awo bwe baatanula okuyimba n'okutendereza, Mukama n’ateekawo abateezi okuteega abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali batabadde Yuda; ne bakubibwa. 14C2H020.023 For the children of Ammon and Moab stood up against the inhabitants of mount Seir, utterly to slay and destroy them: and when they had made an end of the inhabitants of Seir, every one helped to destroy another. %%% Kubanga abaana ba Amoni ne Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, okubatta n'okubazikiririza ddala: awo bwe baamalira ddala ab'oku lusozi Seyiri, buli muntu ne beegatta okuzikiriza munne. 14C2H020.024 And when Judah came toward the watch tower in the wilderness, they looked unto the multitude, and, behold, they were dead bodies fallen to the earth, and none escaped. %%% Awo Yuda bwe baatuuka ku kigo ekikuumirwako eky'omu ddungu, ne batunuulira eggye, kale, laba, nga mirambo egigudde wansi, so tewaali abaawona. 14C2H020.025 And when Jehoshaphat and his people came to take away the spoil of them, they found among them in abundance both riches with the dead bodies, and precious jewels, which they stripped off for themselves, more than they could carry away: and they were three days in gathering of the spoil, it was so much. %%% Awo Yekosafaati n'abantu be bwe baatuuka okubaggyako omunyago, ne basanga mu bo obugagga bungi n'emirambo n'ebintu eby'omuwendo omungi, bye beeyambulira bokka, obungi bwabyo ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga banyaga omunyago, bwe gwali mungi bwe gutyo. 14C2H020.026 And on the fourth day they assembled themselves in the valley of Berachah; for there they blessed the LORD: therefore the name of the same place was called, The valley of Berachah, unto this day. %%% Awo ku lunaku olw'okuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka; kubanga eyo gye beebaliza Mukama: ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya kiwonvu Beraka ne leero. 14C2H020.027 Then they returned, every man of Judah and Jerusalem, and Jehoshaphat in the forefront of them, to go again to Jerusalem with joy; for the LORD had made them to rejoice over their enemies. %%% Awo ne baddayo, buli muntu owa Yuda n'ow'e Yerusaalemi, Yekosafaati ng'abakulembedde, okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama abawadde okusanyukira abalabe baabwe. 14C2H020.028 And they came to Jerusalem with psalteries and harps and trumpets unto the house of the LORD. %%% Ne bajja e Yerusaalemi nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere eri ennyumba ya Mukama. 14C2H020.029 And the fear of God was on all the kingdoms of those countries, when they had heard that the LORD fought against the enemies of Israel. %%% Entiisa ya Katonda n'eba ku bwakabaka bwonna obw'ensi bwe baawulira Mukama ng'alwana n'abalabe ba Isiraeri 14C2H020.030 So the realm of Jehoshaphat was quiet: for his God gave him rest round about. %%% Awo amatwale ga Yekosafaati ne gatereera: kubanga Katonda we yamuwa okuwummula enjuyi zonna. 14C2H020.031 And Jehoshaphat reigned over Judah: he was thirty and five years old when he began to reign, and he reigned twenty and five years in Jerusalem. And his mother's name was Azubah the daughter of Shilhi. %%% Yekosafaati n'afuga Yuda: yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Azuba muwala wa Siruki. 14C2H020.032 And he walked in the way of Asa his father, and departed not from it, doing that which was right in the sight of the LORD. %%% N'atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi. 14C2H020.033 Howbeit the high places were not taken away: for as yet the people had not prepared their hearts unto the God of their fathers. %%% Era naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; so n'abantu nga tebannaba kukakasa mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe. 14C2H020.034 Now the rest of the acts of Jehoshaphat, first and last, behold, they are written in the book of Jehu the son of Hanani, who is mentioned in the book of the kings of Israel. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Yeeku mutabani wa Kanani, ebyayingizibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri. 14C2H020.035 And after this did Jehoshaphat king of Judah join himself with Ahaziah king of Israel, who did very wickedly: %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo Yekosafaati ne yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri; oyo n'akola bubi nnyo: 14C2H020.036 And he joined himself with him to make ships to go to Tarshish: and they made the ships in Eziongaber. %%% ne yeegatta naye okusiba ebyombo eby'okugenda e Talusiisi: ne basibira ebyombo e Ezyonigeba. 14C2H020.037 Then Eliezer the son of Dodavah of Mareshah prophesied against Jehoshaphat, saying, Because thou hast joined thyself with Ahaziah, the LORD hath broken thy works. And the ships were broken, that they were not able to go to Tarshish. %%% Awo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa n'alagula ku Yekosafaati ng'ayogera nti Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama azikirizza emirimu gyo. Ebyombo ne bimenyeka n'okuyinza ne bitayinza kugenda e Talusiisi. 14C2H021.001 Now Jehoshaphat slept with his fathers, and was buried with his fathers in the city of David. And Jehoram his son reigned in his stead. %%% Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. 14C2H021.002 And he had brethren the sons of Jehoshaphat, Azariah, and Jehiel, and Zechariah, and Azariah, and Michael, and Shephatiah: all these were the sons of Jehoshaphat king of Israel. %%% Era yalina ab'oluganda batabani ba Yekosafaati, Azaliya ne Yekyeri ne Zekkaliya ne Azaliya ne Mikayiri ne Sefatiya: abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri. 14C2H021.003 And their father gave them great gifts of silver, and of gold, and of precious things, with fenced cities in Judah: but the kingdom gave he to Jehoram; because he was the firstborn. %%% Kitaabwe n'abawa ebirabo ebikulu, zaabu ne ffeeza n'ebintu eby'omuwendo omungi, n'ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye. 14C2H021.004 Now when Jehoram was risen up to the kingdom of his father, he strengthened himself, and slew all his brethren with the sword, and divers also of the princes of Israel. %%% Awo Yekolaamu bwe yamala okulinnyisibwa mu bwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala n'abamu ab'oku bakulu ba Isiraeri. 14C2H021.005 Jehoram was thirty and two years old when he began to reign, and he reigned eight years in Jerusalem. %%% Yekolaamu yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 14C2H021.006 And he walked in the way of the kings of Israel, like as did the house of Ahab: for he had the daughter of Ahab to wife: and he wrought that which was evil in the eyes of the LORD. %%% N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. 14C2H021.007 Howbeit the LORD would not destroy the house of David, because of the covenant that he had made with David, and as he promised to give a light to him and to his sons for ever. %%% Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yalagaana ne Dawudi, era nga bwe yasuubiza okumuwa ettabaaza n'abaana be emirembe gyonna. 14C2H021.008 In his days the Edomites revolted from under the dominion of Judah, and made themselves a king. %%% Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka. 14C2H021.009 Then Jehoram went forth with his princes, and all his chariots with him: and he rose up by night, and smote the Edomites which compassed him in, and the captains of the chariots. %%% Awo Yekolaamu n'asomoka n'abaami be n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali. 14C2H021.010 So the Edomites revolted from under the hand of Judah unto this day. The same time also did Libnah revolt from under his hand; because he had forsaken the LORD God of his fathers. %%% Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo wansi w'omukono gwe kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe. 14C2H021.011 Moreover he made high places in the mountains of Judah, and caused the inhabitants of Jerusalem to commit fornication, and compelled Judah thereto. %%% Era nate n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'ayenza abaabeeranga mu Yerusaalemi, n'akyamya Yuda. 14C2H021.012 And there came a writing to him from Elijah the prophet, saying, Thus saith the LORD God of David thy father, Because thou hast not walked in the ways of Jehoshaphat thy father, nor in the ways of Asa king of Judah, %%% Awo ne wamujjira ekiwandiike ekyava eri Eriya nnabbi ekyogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo newakubadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda; 14C2H021.013 But hast walked in the way of the kings of Israel, and hast made Judah and the inhabitants of Jerusalem to go a whoring, like to the whoredoms of the house of Ahab, and also hast slain thy brethren of thy father's house, which were better than thyself: %%% naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oyenza Yuda n'ababeera mu Yerusaalemi, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola; era, n'okutta watta baganda bo ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi: 14C2H021.014 Behold, with a great plague will the LORD smite thy people, and thy children, and thy wives, and all thy goods: %%% laba, Mukama alirwaza abantu bo kawumpuli mungi n'abaana bo ne bakazi bo n'ebintu byo byonna: 14C2H021.015 And thou shalt have great sickness by disease of thy bowels, until thy bowels fall out by reason of the sickness day by day. %%% naawe oliba n'endwadde nnyingi ebyenda byo nga; birwadde okutuusa ebyenda byo lwe birikuvaamu olw'endwadde eya buli lunaku. 14C2H021.016 Moreover the LORD stirred up against Jehoram the spirit of the Philistines, and of the Arabians, that were near the Ethiopians: %%% Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gw'Abafirisuuti eri Yekolaamu, n'ogw'Abawalabu abaliraanye Abaesiyopya: 14C2H021.017 And they came up into Judah, and brake into it, and carried away all the substance that was found in the king's house, and his sons also, and his wives; so that there was never a son left him, save Jehoahaz, the youngest of his sons. %%% ne batabaala Yuda, ne bakiwagula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya kabaka ne batabani be ne bakazi be; ne watamusigalirawo mwana n'omu wabula Yekoyakaazi omuto ow'oku baana be, 14C2H021.018 And after all this the LORD smote him in his bowels with an incurable disease. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Mukama n'amulwaza ebyenda endwadde etewonyezeka. 14C2H021.019 And it came to pass, that in process of time, after the end of two years, his bowels fell out by reason of his sickness: so he died of sore diseases. And his people made no burning for him, like the burning of his fathers. %%% Awo olwatuuka ebiro bwe byayitawo emyaka ebiri nga giwedde ebyenda bye ne bimuvaamu olw'endwadde ye n'afa endwadde nnyingi. Abantu be ne batamunyookereza ng'okunyookeza kwa bajjajjaabe. 14C2H021.020 Thirty and two years old was he when he began to reign, and he reigned in Jerusalem eight years, and departed without being desired. Howbeit they buried him in the city of David, but not in the sepulchres of the kings. %%% Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi: n'agenda nga tewali amwegomba; ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka. 14C2H022.001 And the inhabitants of Jerusalem made Ahaziah his youngest son king in his stead: for the band of men that came with the Arabians to the camp had slain all the eldest. So Ahaziah the son of Jehoram king of Judah reigned. %%% Awo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya omwana we omuto kabaka mu kifo kye: kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'afuga. 14C2H022.002 Forty and two years old was Ahaziah when he began to reign, and he reigned one year in Jerusalem. His mother's name also was Athaliah the daughter of Omri. %%% Akaziya yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli. 14C2H022.003 He also walked in the ways of the house of Ahab: for his mother was his counsellor to do wickedly. %%% Era naye n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamuweereranga okukola obubi. 14C2H022.004 Wherefore he did evil in the sight of the LORD like the house of Ahab: for they were his counsellors after the death of his father to his destruction. %%% N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuweereranga, kitaawe ng'amaze okufa, okumuzikiriza. 14C2H022.005 He walked also after their counsel, and went with Jehoram the son of Ahab king of Israel to war against Hazael king of Syria at Ramothgilead: and the Syrians smote Joram. %%% Era yatambulanga ng'okuteesa kwabwe bwe kwali n'agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu. 14C2H022.006 And he returned to be healed in Jezreel because of the wounds which were given him at Ramah, when he fought with Hazael king of Syria. And Azariah the son of Jehoram king of Judah went down to see Jehoram the son of Ahab at Jezreel, because he was sick. %%% Awo n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Azaliya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yekolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde: 14C2H022.007 And the destruction of Ahaziah was of God by coming to Joram: for when he was come, he went out with Jehoram against Jehu the son of Nimshi, whom the LORD had anointed to cut off the house of Ahab. %%% Era okuzikirira kwa Akaziya kwava eri Katonda, kubanga yagenda eri Yolaamu: kubanga bwe yajja, n'agenda ne Yekolaamu eri Yeeku mutabani wa Nimusu Mukama gwe yali afuseeko amafuta okumalawo ennyumba ya Akabu. 14C2H022.008 And it came to pass, that, when Jehu was executing judgment upon the house of Ahab, and found the princes of Judah, and the sons of the brethren of Ahaziah, that ministered to Ahaziah, he slew them. %%% Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'akomekkereza omusango ku nnyumba ya Akabu n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya nga baweereza Akaziya, n'abatta. 14C2H022.009 And he sought Ahaziah: and they caught him, (for he was hid in Samaria,) and brought him to Jehu: and when they had slain him, they buried him: Because, said they, he is the son of Jehoshaphat, who sought the LORD with all his heart. So the house of Ahaziah had no power to keep still the kingdom. %%% N'anoonya Akaziya ne bamukwata, (era yali nga yeekwese mu Samaliya,) ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta; ne bamuziika, kubanga baayogera nti Ye mutabani wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna. Ennyumba ya Akaziya n'eteba na maanyi okunyweeza obwakabaka. 14C2H022.010 But when Athaliah the mother of Ahaziah saw that her son was dead, she arose and destroyed all the seed royal of the house of Judah. %%% Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n’agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka ery'ennyumba ya Yuda. 14C2H022.011 But Jehoshabeath, the daughter of the king, took Joash the son of Ahaziah, and stole him from among the king's sons that were slain, and put him and his nurse in a bedchamber. So Jehoshabeath, the daughter of king Jehoram, the wife of Jehoiada the priest, (for she was the sister of Ahaziah,) hid him from Athaliah, so that she slew him not. %%% Naye Yekosabeyaasi muwala wa kabaka n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amuteeka n'omulezi we, mu kisenge ekisulibwamu. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu muka Yekoyaada kabona, (kubanga yali muganda wa Akaziya,) n'amukweka Asaliya, n'atamutta. 14C2H022.012 And he was with them hid in the house of God six years: and Athaliah reigned over the land. %%% Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n'afuga ensi. 14C2H023.001 And in the seventh year Jehoiada strengthened himself, and took the captains of hundreds, Azariah the son of Jeroham, and Ishmael the son of Jehohanan, and Azariah the son of Obed, and Maaseiah the son of Adaiah, and Elishaphat the son of Zichri, into covenant with him. %%% Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada ne yeenyweza n'alagaanya abaami b'ebikumi, Azaliya mutabani wa Yerokamu ne Isimaeri mutabani wa Yekokanani ne Azaliya mutabani wa Obedi ne Maaseya mutabani wa Adaya ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. 14C2H023.002 And they went about in Judah, and gathered the Levites out of all the cities of Judah, and the chief of the fathers of Israel, and they came to Jerusalem. %%% Awo ne batambulatambula mu Yuda ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi. 14C2H023.003 And all the congregation made a covenant with the king in the house of God. And he said unto them, Behold, the king's son shall reign, as the LORD hath said of the sons of David. %%% Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo n'abagamba nti Laba, mutabani wa kabaka anaafuga, nga Mukama bwe yayogera ebya batabani ba Dawudi. 14C2H023.004 This is the thing that ye shall do; A third part of you entering on the sabbath, of the priests and of the Levites, shall be porters of the doors; %%% Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abayingira ku ssabbiiti, ku bakabona ne ku Baleevi, banaabanga baggazi ba nzigi; 14C2H023.005 And a third part shall be at the king's house; and a third part at the gate of the foundation: and all the people shall be in the courts of the house of the LORD. %%% n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku nnyumba ya kabaka; n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku mulyango ogw'omusingi: n'abantu bonna banaabanga mu mpya ez'ennyumba ya Mukama. 14C2H023.006 But let none come into the house of the LORD, save the priests, and they that minister of the Levites; they shall go in, for they are holy: but all the people shall keep the watch of the LORD. %%% Naye walemenga okubaawo anaayingira mu nnyumba ya Mukama wabula bakabona n'abo ab'oku Baleevi abaweereza; abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu bonna banaakwatanga okukuuma kwa Mukama. 14C2H023.007 And the Levites shall compass the king round about, every man with his weapons in his hand; and whosoever else cometh into the house, he shall be put to death: but be ye with the king when he cometh in, and when he goeth out. %%% Era Abaleevi baneetooloolanga kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingiranga mu nnyumba attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga. 14C2H023.008 So the Levites and all Judah did according to all things that Jehoiada the priest had commanded, and took every man his men that were to come in on the sabbath, with them that were to go out on the sabbath: for Jehoiada the priest dismissed not the courses. %%% Awo Abaleevi ne Yuda yenna ne bakola nga bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti; kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula mpalo. 14C2H023.009 Moreover Jehoiada the priest delivered to the captains of hundreds spears, and bucklers, and shields, that had been king David's, which were in the house of God. %%% Awo Yekoyaada kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'obugabo n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda. 14C2H023.010 And he set all the people, every man having his weapon in his hand, from the right side of the temple to the left side of the temple, along by the altar and the temple, by the king round about. %%% Awo n'assaawo abantu bonna, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n’ennyumba awali kabaka enjuyi zonna. 14C2H023.011 Then they brought out the king's son, and put upon him the crown, and gave him the testimony, and made him king. And Jehoiada and his sons anointed him, and said, God save the king. %%% Awo ne bafulumya omwana wa kabaka ne bamutikkira engule ey'obwakabaka ne bamuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta; ne boogera nti Kabaka abe mulamu. 14C2H023.012 Now when Athaliah heard the noise of the people running and praising the king, she came to the people into the house of the LORD: %%% Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga baddukana era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama: 14C2H023.013 And she looked, and, behold, the king stood at his pillar at the entering in, and the princes and the trumpets by the king: and all the people of the land rejoiced, and sounded with trumpets, also the singers with instruments of musick, and such as taught to sing praise. Then Athaliah rent her clothes, and said, Treason, Treason. %%% n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ye awayingirirwa, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi eyo ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere; era n'abayimbi nabo ne bakuba ebintu ebivuga ne baleetereza oluyimba olw'okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Bujeemu, bujeemu. 14C2H023.014 Then Jehoiada the priest brought out the captains of hundreds that were set over the host, and said unto them, Have her forth of the ranges: and whoso followeth her, let him be slain with the sword. For the priest said, Slay her not in the house of the LORD. %%% Awo Yekoyaada kabona n'afulumya abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera attibwe n'ekitala; kubanga kabona yayogera nti Temumuttira mu nnyumba ya Mukama. 14C2H023.015 So they laid hands on her; and when she was come to the entering of the horse gate by the king's house, they slew her there. %%% Awo ne bamusegulira; n'agenda awayingirirwa mu mulyango ogw'embalaasi mu nnyumba ya kabaka: ne bamuttira eyo. 14C2H023.016 And Jehoiada made a covenant between him, and between all the people, and between the king, that they should be the LORD's people. %%% Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano naye yennyini n'abantu bonna ne kabaka, babeerenga abantu ba Mukama. 14C2H023.017 Then all the people went to the house of Baal, and brake it down, and brake his altars and his images in pieces, and slew Mattan the priest of Baal before the altars. %%% Awo abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. 14C2H023.018 Also Jehoiada appointed the offices of the house of the LORD by the hand of the priests the Levites, whom David had distributed in the house of the LORD, to offer the burnt offerings of the LORD, as it is written in the law of Moses, with rejoicing and with singing, as it was ordained by David. %%% Awo Yekoyaada n'assaawo obwami obw'oku nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa bakabona Abaleevi, Dawudi be yateekateeka mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yateekateeka. 14C2H023.019 And he set the porters at the gates of the house of the LORD, that none which was unclean in any thing should enter in. %%% N'assaawo abaggazi ku nzigi z'ennyumba ya Mukama, walemenga okuyingira omuntu yenna atali mulongoofu olw'ekigambo kyonna. 14C2H023.020 And he took the captains of hundreds, and the nobles, and the governors of the people, and all the people of the land, and brought down the king from the house of the LORD: and they came through the high gate into the king's house, and set the king upon the throne of the kingdom. %%% N'atwala abaami b'ebikumi n'abakungu n'abakulu b'abantu n'abantu bonna ab'omu nsi; n'aserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama: ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu eri ennyumba ya kabaka, ne batuuza kabaka ku ntebe y'obwakabaka. 14C2H023.021 And all the people of the land rejoiced: and the city was quiet, after that they had slain Athaliah with the sword. %%% Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne batta Asaliya n'ekitala. 14C2H024.001 Joash was seven years old when he began to reign, and he reigned forty years in Jerusalem. His mother's name also was Zibiah of Beersheba. %%% Yowaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba. 14C2H024.002 And Joash did that which was right in the sight of the LORD all the days of Jehoiada the priest. %%% Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku zonna eza Yekoyaada kabona. 14C2H024.003 And Jehoiada took for him two wives; and he begat sons and daughters. %%% Yekoyaada n'amuwasiza abakazi babiri; n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 14C2H024.004 And it came to pass after this, that Joash was minded to repair the house of the LORD. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Yowaasi n'ayagala okuddaabiriza ennyumba ya Mukama. 14C2H024.005 And he gathered together the priests and the Levites, and said to them, Go out unto the cities of Judah, and gather of all Israel money to repair the house of your God from year to year, and see that ye hasten the matter. Howbeit the Levites hastened it not. %%% N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti Mufulume mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku Isiraeri yenna ffeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe buli mwaka, era temulema kwanguya ekigambo ekyo. Era naye Abaleevi ne batakyanguya. 14C2H024.006 And the king called for Jehoiada the chief, and said unto him, Why hast thou not required of the Levites to bring in out of Judah and out of Jerusalem the collection, according to the commandment of Moses the servant of the LORD, and of the congregation of Israel, for the tabernacle of witness? %%% Awo kabaka n’ayita Yekoyaada omukulu n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okusalira Abaleevi okuleetanga omusolo gwa Musa omuddu wa Mukama olw'eweema ey'obujulirwa nga bagusolooza ku Yuda ne ku Yerusaalemi ne ku kibiina kya Isiraeri? 14C2H024.007 For the sons of Athaliah, that wicked woman, had broken up the house of God; and also all the dedicated things of the house of the LORD did they bestow upon Baalim. %%% Kubanga batabani ba Asaliya, omukazi oyo omubi, baali bamenye ennyumba ya Katonda; era n'ebintu byonna ebyawongebwa eby'omu nnyumba ya Mukama ne babiwa Babaali. 14C2H024.008 And at the king's commandment they made a chest, and set it without at the gate of the house of the LORD. %%% Awo kabaka n'alagira ne bakola essanduuko, ne bagiteeka ebweru awali oluggi olw'ennyumba ya Mukama. 14C2H024.009 And they made a proclamation through Judah and Jerusalem, to bring in to the LORD the collection that Moses the servant of God laid upon Israel in the wilderness. %%% Ne balangira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi okuleetera Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yateeka ku Isiraeri mu ddungu. 14C2H024.010 And all the princes and all the people rejoiced, and brought in, and cast into the chest, until they had made an end. %%% Awo abakulu bonna n'abantu bonna ne basanyuka ne baleeta ne basuula mu ssaaduuko okutuusa lwe baamala. 14C2H024.011 Now it came to pass, that at what time the chest was brought unto the king's office by the hand of the Levites, and when they saw that there was much money, the king's scribe and the high priest's officer came and emptied the chest, and took it, and carried it to his place again. Thus they did day by day, and gathered money in abundance. %%% Awo olwatuuka mu kiseera ekyo lwe baaleetanga essanduuko mu nju kabaka w'ateeseza ebigambo mu mukono gw'Abaleevi, era bwe baalaba nga mulimu ebintu bingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu ne bajja ne baggyamu ebintu mu ssanduuko, ne bagitwala ne bagizza mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne basolooza ebintu bingi nnyo. 14C2H024.012 And the king and Jehoiada gave it to such as did the work of the service of the house of the LORD, and hired masons and carpenters to repair the house of the LORD, and also such as wrought iron and brass to mend the house of the LORD. %%% Awo kabaka ne Yekoyaada ne bagiwa abo abaakolanga omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama; ne bagulirira ab'amayinja n'ababazzi okuddaabiriza ennyumba ya Mukama era n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo okuddaabiriza ennyumba ya Mukama. 14C2H024.013 So the workmen wrought, and the work was perfected by them, and they set the house of God in his state, and strengthened it. %%% Awo abakozi ne bakola omulimu ne bakamala, ne basimba ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza. 14C2H024.014 And when they had finished it, they brought the rest of the money before the king and Jehoiada, whereof were made vessels for the house of the LORD, even vessels to minister, and to offer withal, and spoons, and vessels of gold and silver. And they offered burnt offerings in the house of the LORD continually all the days of Jehoiada. %%% Awo bwe baamalira ddala, ne baleeta ebintu ebyafikkawo mu maaso ga kabaka ne Yekoyaada, ne babikoza ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama, ebintu ebiweereza era eby'okuwongeramu, n'ebijiiko, n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza. Ne bawangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama obutayosanga ennaku zonna eza Yekoyaada. 14C2H024.015 But Jehoiada waxed old, and was full of days when he died; an hundred and thirty years old was he when he died. %%% Naye Yekoyaada n'akaddiwa, ng'ajjudde ennaku ng'awangadde ennaku nnyingi n'afa; yali yaakamaze emyaka kikumi mu amakumi asatu we yafiira. 14C2H024.016 And they buried him in the city of David among the kings, because he had done good in Israel, both toward God, and toward his house. %%% Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi mu bakabaka kubanga yakola bulungi mu Isiraeri n'eri Katonda n'ennyumba ye. 14C2H024.017 Now after the death of Jehoiada came the princes of Judah, and made obeisance to the king. Then the king hearkened unto them. %%% Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde abakulu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawulira. 14C2H024.018 And they left the house of the LORD God of their fathers, and served groves and idols: and wrath came upon Judah and Jerusalem for this their trespass. %%% Ne balekanga ennyumba ya Mukama Katonda: wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n'ebifaananyi: obusungu ne bujja ku Yuda ne ku Yerusaalemi olw'omusango gwabwe ogwo. 14C2H024.019 Yet he sent prophets to them, to bring them again unto the LORD; and they testified against them: but they would not give ear. %%% Era naye n'abatumiranga bannabbi okubakomyawo eri Mukama; ne babanga bajulirwa eri bo: naye ne bataganyanga kutega matu. 14C2H024.020 And the Spirit of God came upon Zechariah the son of Jehoiada the priest, which stood above the people, and said unto them, Thus saith God, Why transgress ye the commandments of the LORD, that ye cannot prosper? because ye have forsaken the LORD, he hath also forsaken you. %%% Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona; n'ayimirira wagguluko awali abantu n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti Musobezanga ki ebiragiro bya Mukama n'okuyinza ne mutayinza kulaba mukisa? kubanga mwaleka Mukama, era naye kyavudde abaleka mmwe. 14C2H024.021 And they conspired against him, and stoned him with stones at the commandment of the king in the court of the house of the LORD. %%% Ne bamwekobaana era olw'ekiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya olw'oku nnyumba ya Mukama. 14C2H024.022 Thus Joash the king remembered not the kindness which Jehoiada his father had done to him, but slew his son. And when he died, he said, The LORD look upon it, and require it. %%% Bw'atyo Yowaasi kabaka n'atajjukira kisa kye yakolwa Yekoyaada kitaawe, naye n'atta mutabani we. Awo bwe yali ali kumpi okufa n'ayogera nti Mukama akitunuulire akivunaane. 14C2H024.023 And it came to pass at the end of the year, that the host of Syria came up against him: and they came to Judah and Jerusalem, and destroyed all the princes of the people from among the people, and sent all the spoil of them unto the king of Damascus. %%% Awo olwatuuka omwaka bwe gwayitawo eggye ery'Abasuuli ne limutabaala: ne bajja eri Yuda ne Yerusaalemi ne bazikiriza abakulu bonna ab'abantu okubamalawo mu bantu, ne baweereza omunyago gwabwe gwonna eri kabaka w'e Ddamasiko. 14C2H024.024 For the army of the Syrians came with a small company of men, and the LORD delivered a very great host into their hand, because they had forsaken the LORD God of their fathers. So they executed judgment against Joash. %%% Kubanga eggye ery'Abasuuli lyajja nga balina ekibiina ky'abasajja ekitono; Mukama n'agabula mu mukono gwabwe eggye eddene ennyo nnyini, kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 14C2H024.025 And when they were departed from him, (for they left him in great diseases,) his own servants conspired against him for the blood of the sons of Jehoiada the priest, and slew him on his bed, and he died: and they buried him in the city of David, but they buried him not in the sepulchres of the kings. %%% Awo bwe baamuvaako (kubanga baamuleka obulwadde nga bumukutte nnyo) abaddu be ye ne bamwekobaana olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira ku kitanda kye n'afa: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka: 14C2H024.026 And these are they that conspired against him; Zabad the son of Shimeath an Ammonitess, and Jehozabad the son of Shimrith a Moabitess. %%% Era bano be baamwekobaana; Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu. 14C2H024.027 Now concerning his sons, and the greatness of the burdens laid upon him, and the repairing of the house of God, behold, they are written in the story of the book of the kings. And Amaziah his son reigned in his stead. %%% Era ebya batabani be n'emigugu egyamuteekebwako bwe gyali emikulu n'okuzimba nate ennyumba ya Katonda, laba, byawandiikibwa mu bitegeeza eby'ekitabo kya bassekabaka. Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye. 14C2H025.001 Amaziah was twenty and five years old when he began to reign, and he reigned twenty and nine years in Jerusalem. And his mother's name was Jehoaddan of Jerusalem. %%% Amaziya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyali Yekoyadaani ow'e Yerusaalemi. 14C2H025.002 And he did that which was right in the sight of the LORD, but not with a perfect heart. %%% N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebigolokofu, naye si na mutima ogwatuukirira. 14C2H025.003 Now it came to pass, when the kingdom was established to him, that he slew his servants that had killed the king his father. %%% Awo olwatuuka obwakabaka bwe bwanywezebwa gy'ali, n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe. 14C2H025.004 But he slew not their children, but did as it is written in the law in the book of Moses, where the LORD commanded, saying, The fathers shall not die for the children, neither shall the children die for the fathers, but every man shall die for his own sin. %%% Naye n'atatta baana baabwe, naye n'akola ng'ekyo bwe kiri ekyawandiikibwa mu mateeka ag'omu kitabo kya Musa nga Mukama bwe yalagira nti Kitaabwe talangibwanga gwa baana be okumutta, so n'abaana tebalangibwanga gwa bakitaabwe okubatta; naye buli muntu alangibwenga okwonoona kwe ye okumutta. 14C2H025.005 Moreover Amaziah gathered Judah together, and made them captains over thousands, and captains over hundreds, according to the houses of their fathers, throughout all Judah and Benjamin: and he numbered them from twenty years old and above, and found them three hundred thousand choice men, able to go forth to war, that could handle spear and shield. %%% Era nate Amaziya n'akuŋŋaanya Yuda, n'abateekateeka ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali nga batwalibwa abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, Yuda yenna ne Benyamini: n'ababala abaakamaze emyaka amakumu abiri n'okukirawo, n'abalaba nga basajja abalonde obusiriivu busatu, abaayinza okutabaala, abaayinza okukwata effumu n'engabo. 14C2H025.006 He hired also an hundred thousand mighty men of valour out of Israel for an hundred talents of silver. %%% Era n'agulirira abasajja ab'amaanyi abazira kasiriivu ng'abaggya mu Isiraeii, olwa talanta eza ffeeza kikumi. 14C2H025.007 But there came a man of God to him, saying, O king, let not the army of Israel go with thee; for the LORD is not with Israel, to wit, with all the children of Ephraim. %%% Naye ne wajja gy'ali omusajja wa Katonda ng'ayogera nti Ggwe kabaka, eggye lya Isiraeri lireme okugenda naawe; kubanga Mukama taliwamu ne Isiraeri, tali wamu n'abaana bonna aba Efulayimu. 14C2H025.008 But if thou wilt go, do it, be strong for the battle: God shall make thee fall before the enemy: for God hath power to help, and to cast down. %%% Naye bw'onooyagala okugenda, kola eby'obuzira, beera n'amaanyi olw'olutalo: Katonda alikumegga mu maaso g'abalabe; kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n'okumegga. 14C2H025.009 And Amaziah said to the man of God, But what shall we do for the hundred talents which I have given to the army of Israel? And the man of God answered, The LORD is able to give thee much more than this. %%% Awo Amaziya n'agamba omusajja wa Katonda nti Naye tunaakola tutya olwa talanta ekikumi ze mmaze okuwa eggye lya Isiraeri? Omusajja wa Katonda n'addamu nti Mukama ayinza okukuwa ebisinga ennyo ebyo. 14C2H025.010 Then Amaziah separated them, to wit, the army that was come to him out of Ephraim, to go home again: wherefore their anger was greatly kindled against Judah, and they returned home in great anger. %%% Awo Amaziya n'abaawulamu, eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe: obusungu bwabwe kyebwava bubuubuuka ennyo eri Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi. 14C2H025.011 And Amaziah strengthened himself, and led forth his people, and went to the valley of salt, and smote of the children of Seir ten thousand. %%% Awo Amaziya n'aguma omwoyo n'atabaaza abantu be n'agenda mu kiwonvu eky'omunnyo n'atta ku baana ab'oku Seyiri kakumi. 14C2H025.012 And other ten thousand left alive did the children of Judah carry away captive, and brought them unto the top of the rock, and cast them down from the top of the rock, that they all were broken in pieces. %%% Abaana ba Yuda ne bawamba ne batwala kakumi abalala, ne babaleeta waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbanga ly'olwazi, n'okumenyeka ne bamenyeka. 14C2H025.013 But the soldiers of the army which Amaziah sent back, that they should not go with him to battle, fell upon the cities of Judah, from Samaria even unto Bethhoron, and smote three thousand of them, and took much spoil. %%% Naye abasajja ab'omu ggye Amaziya lye yazzaayo baleme okutabaala naye, ne bagwa ku bibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu, ne banyaga omunyago mungi. 14C2H025.014 Now it came to pass, after that Amaziah was come from the slaughter of the Edomites, that he brought the gods of the children of Seir, and set them up to be his gods, and bowed down himself before them, and burned incense unto them. %%% Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng'asse Abaedomu, n'aleeta bakatonda b'abaana ab'oku Seyiri, n'abasimba okuba bakatonda be, n'avuunama mu maaso gaabwe n'abootereza obubaane. 14C2H025.015 Wherefore the anger of the LORD was kindled against Amaziah, and he sent unto him a prophet, which said unto him, Why hast thou sought after the gods of the people, which could not deliver their own people out of thine hand? %%% Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Amaziya, n'amutumira nnabbi n'amugamba nti Wagenderanga ki eri bakatonda b'abantu abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo? 14C2H025.016 And it came to pass, as he talked with him, that the king said unto him, Art thou made of the king's counsel? forbear; why shouldest thou be smitten? Then the prophet forbare, and said, I know that God hath determined to destroy thee, because thou hast done this, and hast not hearkened unto my counsel. %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'ayogera naye kabaka n'amugamba nti Twali tukuyingizizza ggwe mu bateesa ne kabaka? lekera awo; wandikubiddwa lwa ki? Awo nnabbi n'alekera awo n'ayogera nti Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza kubanga wakola ekyo n'otowulira kuteesa kwange. 14C2H025.017 Then Amaziah king of Judah took advice, and sent to Joash, the son of Jehoahaz, the son of Jehu, king of Israel, saying, Come, let us see one another in the face. %%% Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, n'ateesa ebigambo n'atumira Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso. 14C2H025.018 And Joash king of Israel sent to Amaziah king of Judah, saying, The thistle that was in Lebanon sent to the cedar that was in Lebanon, saying, Give thy daughter to my son to wife: and there passed by a wild beast that was in Lebanon, and trode down the thistle. %%% Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Wa muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango. 14C2H025.019 Thou sayest, Lo, thou hast smitten the Edomites; and thine heart lifteth thee up to boast: abide now at home; why shouldest thou meddle to thine hurt, that thou shouldest fall, even thou, and Judah with thee? %%% Oyogera nti Laba, okubye Edomu; n'omutima gwo gukugulumizizza okwenyumiriza: obeere nno eka; lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa, ggwe ne Yuda wamu naawe? 14C2H025.020 But Amaziah would not hear; for it came of God, that he might deliver them into the hand of their enemies, because they sought after the gods of Edom. %%% Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira; kubanga kyava eri Katonda abagabule mu mukono gw'abalabe baabwe, kubanga baanoonyanga bakatonda ba Edomu. 14C2H025.021 So Joash the king of Israel went up; and they saw one another in the face, both he and Amaziah king of Judah, at Bethshemesh, which belongeth to Judah. %%% Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda. 14C2H025.022 And Judah was put to the worse before Israel, and they fled every man to his tent. %%% Yuda n'agobebwa mu so ga Isiraeri; ne baddukira buli muntu mu weema ye. 14C2H025.023 And Joash the king of Israel took Amaziah king of Judah, the son of Joash, the son of Jehoahaz, at Bethshemesh, and brought him to Jerusalem, and brake down the wall of Jerusalem from the gate of Ephraim to the corner gate, four hundred cubits. %%% Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n'amuleeta e Yerusaalemi n'amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina. 14C2H025.024 And he took all the gold and the silver, and all the vessels that were found in the house of God with Obededom, and the treasures of the king's house, the hostages also, and returned to Samaria. %%% N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n’ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Katonda wamu ne Obededomu, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, era n'emisingo nabo, n'addayo e Samaliya 14C2H025.025 And Amaziah the son of Joash king of Judah lived after the death of Joash son of Jehoahaz king of Israel fifteen years. %%% Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'awangaala emyaka kkumi n'etaano Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okafa. 14C2H025.026 Now the rest of the acts of Amaziah, first and last, behold, are they not written in the book of the kings of Judah and Israel? %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya, ebyasooka n'ebyamalirvvako, laba, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri? 14C2H025.027 Now after the time that Amaziah did turn away from following the LORD they made a conspiracy against him in Jerusalem; and he fled to Lachish: but they sent to Lachish after him, and slew him there. %%% Era okuva mu biro Amaziya lwe yakyuka obutagoberera Mukama ne bamwekobaana mu Yerusaalemi; n'addukira e Lakisi naye ne batuma e Lakisi okumugoberera ne bamuttira eyo. 14C2H025.028 And they brought him upon horses, and buried him with his fathers in the city of Judah. %%% Ne bamuleetera ku mbalaasi, ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda. 14C2H026.001 Then all the people of Judah took Uzziah, who was sixteen years old, and made him king in the room of his father Amaziah. %%% Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali yaakamaze emyaka ekkumi n'omukaaga ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya. 14C2H026.002 He built Eloth, and restored it to Judah, after that the king slept with his fathers. %%% N'azimba Erosi, n'akizzaayo eri Yuda, kabaka ng'amaze okwebakira awamu ne bajjajjaabe. 14C2H026.003 Sixteen years old was Uzziah when he began to reign, and he reigned fifty and two years in Jerusalem. His mother's name also was Jecoliah of Jerusalem. %%% Uzziya yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi. 14C2H026.004 And he did that which was right in the sight of the LORD, according to all that his father Amaziah did. %%% N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Amaziya bye yakola. 14C2H026.005 And he sought God in the days of Zechariah, who had understanding in the visions of God: and as long as he sought the LORD, God made him to prosper. %%% Ne yeesimba okunoonya Katonda mu nnaku za Zekkaliya eyalina okutegeera mu kwolesebwa kwa Katonda: era ebiro byonna lwe yanoonyanga Mukama, Katonda n'amulabyanga omukisa. 14C2H026.006 And he went forth and warred against the Philistines, and brake down the wall of Gath, and the wall of Jabneh, and the wall of Ashdod, and built cities about Ashdod, and among the Philistines. %%% Awo n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe wa Gaasi ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi; n'azimba ebibuga mu nsi ya Asudodi ne mu Bafirisuuti. 14C2H026.007 And God helped him against the Philistines, and against the Arabians that dwelt in Gurbaal, and the Mehunims. %%% Katonda n'amuyambanga ng'alwana n'Abafirisuuti n'Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali n'Abamewunimu. 14C2H026.008 And the Ammonites gave gifts to Uzziah: and his name spread abroad even to the entering in of Egypt; for he strengthened himself exceedingly. %%% Abamoni ne bawanga Uzziya ebirabo: erinnya lye ne lyatiikirira n'okutuusa awayingirirwa e Misiri; kubanga yaba n'amaanyi mangi nnyo nnyini. 14C2H026.009 Moreover Uzziah built towers in Jerusalem at the corner gate, and at the valley gate, and at the turning of the wall, and fortified them. %%% Era nate Uzziya n'azimba ebigo mu Yerusaalemi ku luggi olw'oku nsonda ne ku luggi olw'omu kiwonvu ne bbugwe w'akyukira, n'abinyweza. 14C2H026.010 Also he built towers in the desert, and digged many wells: for he had much cattle, both in the low country, and in the plains: husbandmen also, and vine dressers in the mountains, and in Carmel: for he loved husbandry. %%% N'azimba ebigo mu ddungu n'abajja ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi; ne mu biwonvu ne mu lusenyi: era yalina abalimi n'abalongoosa emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu; kubanga yayagala nnyo okulima. 14C2H026.011 Moreover Uzziah had an host of fighting men, that went out to war by bands, according to the number of their account by the hand of Jeiel the scribe and Maaseiah the ruler, under the hand of Hananiah, one of the king's captains. %%% Era nate Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abaatabaalanga ebibiina n'ebibiina, ng'omuwendo gw'okubalibwa kwabwe bwe gwali Yeyeri omuwandiisi gwe yabala, ne Maaseya omwami wansi w'omukono gwa Kananiya omu ku baami ba kabaka. 14C2H026.012 The whole number of the chief of the fathers of the mighty men of valour were two thousand and six hundred. %%% Omuwendo gwonna ogw'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga. 14C2H026.013 And under their hand was an army, three hundred thousand and seven thousand and five hundred, that made war with mighty power, to help the king against the enemy. %%% Era wansi w'omukono gwabwe ne waba eggye eryayigirizibwa, obusiriivu busatu mu kasanvu mu bitaano, abaalwananga n'obuyinza bungi nnyo, okuyambanga kabaka eri abalabe. 14C2H026.014 And Uzziah prepared for them throughout all the host shields, and spears, and helmets, and habergeons, and bows, and slings to cast stones. %%% Uzziya n'abategekera eggye lyonna engabo n'amafumu n'enkuufiira n'ebizibawo eby'ebyuma n'emitego n'amayinja ag'okuvuumuula. 14C2H026.015 And he made in Jerusalem engines, invented by cunning men, to be on the towers and upon the bulwarks, to shoot arrows and great stones withal. And his name spread far abroad; for he was marvellously helped, till he was strong. %%% N'akolera mu Yerusaalemi ebyuma ebyagunjibwa abasajja ab'amagezi okubanga ku bigo ne ku nkomera eby'okulasa obusaale n'amayinja amanene. Erinnya lye ne lyatiikirira wala; kubanga yayambwanga kitalo okutuusa lwe yafuna amaanyi. 14C2H026.016 But when he was strong, his heart was lifted up to his destruction: for he transgressed against the LORD his God, and went into the temple of the LORD to burn incense upon the altar of incense. %%% Naye lwe yafuna amaanyi omutima gwe ne gugulumizibwa n'okukola n'akola eby'obukyamu n’ayonoona Mukama Katonda we; kubanga yayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'obubaane. 14C2H026.017 And Azariah the priest went in after him, and with him fourscore priests of the LORD, that were valiant men: %%% Azaliya kabona n'ayingira ng'amuvaako ennyuma, era wamu naye bakabona ba Mukama kinaana abasajja abazira: 14C2H026.018 And they withstood Uzziah the king, and said unto him, It appertaineth not unto thee, Uzziah, to burn incense unto the LORD, but to the priests the sons of Aaron, that are consecrated to burn incense: go out of the sanctuary; for thou hast trespassed; neither shall it be for thine honour from the LORD God. %%% ne baziyiza Uzziya kabaka, ne bamugamba nti Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane wabula gwa bakabona batabani ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane: va mu kigwa; kubanga oyonoonye; so tekiriba kya kitiibwa kyo okuva eri Mukama Katonda. 14C2H026.019 Then Uzziah was wroth, and had a censer in his hand to burn incense: and while he was wroth with the priests, the leprosy even rose up in his forehead before the priests in the house of the LORD, from beside the incense altar. %%% Awo Uzziya n'asunguwala; era yali alina ekyoterezo mu mukono gwe okwoteza obubaane; awo ng'asunguwalidde bakabona ebigenge ne bifuutuuka mu kyenyi kye mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Mukama ku mabbali g'ekyoto eky'obubaane. 14C2H026.020 And Azariah the chief priest, and all the priests, looked upon him, and, behold, he was leprous in his forehead, and they thrust him out from thence; yea, himself hasted also to go out, because the LORD had smitten him. %%% Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, era, laba, ebigenge nga bimukutte mu kyenyi, ne banguwa okumusindiikiriza okuvaamu; weewaawo, ye yennyini n'ayanguwa okuvaamu kubanga Mukama amulwazizza. 14C2H026.021 And Uzziah the king was a leper unto the day of his death, and dwelt in a several house, being a leper; for he was cut off from the house of the LORD: and Jotham his son was over the king's house, judging the people of the land. %%% Uzziya kabaka n'abanga omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyayawulibwa nga mugenge; kubanga yaggibwa mu nnyumba ya Mukama: Yosamu mutabani we n'abanga mukulu w'ennyumba ya kabaka, ng'alamula abantu ab'omu nsi. 14C2H026.022 Now the rest of the acts of Uzziah, first and last, did Isaiah the prophet, the son of Amoz, write. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, ebyasooka n'ebyamalirwako, Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi yabiwandiika. 14C2H026.023 So Uzziah slept with his fathers, and they buried him with his fathers in the field of the burial which belonged to the kings; for they said, He is a leper: and Jotham his son reigned in his stead. %%% Awo Uzziya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibanja eky'okuziikangamu ekya bassekabaka; kubanga baayogera nti Mugenge: Yosamu mutabani we n'amuddira mu bigere. 14C2H027.001 Jotham was twenty and five years old when he began to reign, and he reigned sixteen years in Jerusalem. His mother's name also was Jerushah, the daughter of Zadok. %%% Yosamu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadoki. 14C2H027.002 And he did that which was right in the sight of the LORD, according to all that his father Uzziah did: howbeit he entered not into the temple of the LORD. And the people did yet corruptly. %%% N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Uzziya bye yakolanga: era naye teyayingiranga mu yeekaalu ya Mukama. Abantu ne beeyongeranga okukola eby'obukyamu. 14C2H027.003 He built the high gate of the house of the LORD, and on the wall of Ophel he built much. %%% N'azimba oluggi olwa waggulu olw'omu nnyumba ya Mukama, n'azimba bingi ku bbugwe wa Oferi. 14C2H027.004 Moreover he built cities in the mountains of Judah, and in the forests he built castles and towers. %%% Era n'azimba ebibuga mu nsi ey'ensozi eya Yuda, ne mu kibira n'azimbamu enkomera n'ebigo. 14C2H027.005 He fought also with the king of the Ammonites, and prevailed against them. And the children of Ammon gave him the same year an hundred talents of silver, and ten thousand measures of wheat, and ten thousand of barley. So much did the children of Ammon pay unto him, both the second year, and the third. %%% Era n'alwana ne kabaka w'abaana ba Amoni n'abawangula. Abaana ba Amoni ne bamuwa mu mwaka ogwo ffeeza talanta kikumi n'eŋŋaano ebigero kakumi ne sayiri kakumi. Era ebyenkana n'ebyo abaana ba Amoni ne bamusasula mu mwaka ogw'okubiri ne mu gw'okusatu. 14C2H027.006 So Jotham became mighty, because he prepared his ways before the LORD his God. %%% Awo Yosamu n'afuuka ow'amaanyi kubanga yateekateeka amakubo ge mu maaso ga Mukama Katonda we. 14C2H027.007 Now the rest of the acts of Jotham, and all his wars, and his ways, lo, they are written in the book of the kings of Israel and Judah. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu n'entalo ze zonna n'amakubo ge, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. 14C2H027.008 He was five and twenty years old when he began to reign, and reigned sixteen years in Jerusalem. %%% Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. 14C2H027.009 And Jotham slept with his fathers, and they buried him in the city of David: and Ahaz his son reigned in his stead. %%% Yosamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Akazi mutabani we n'amuddira mu bigere. 14C2H028.001 Ahaz was twenty years old when he began to reign, and he reigned sixteen years in Jerusalem: but he did not that which was right in the sight of the LORD, like David his father: %%% Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, n'atakola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe: 14C2H028.002 For he walked in the ways of the kings of Israel, and made also molten images for Baalim. %%% naye n'atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isiraeri, era n'akolera Babaali ebifaananyi ebisaanuuse. 14C2H028.003 Moreover he burnt incense in the valley of the son of Hinnom, and burnt his children in the fire, after the abominations of the heathen whom the LORD had cast out before the children of Israel. %%% Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'ayokera abaana be mu muliro ng'emizizo gy'ab'amawanga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 14C2H028.004 He sacrificed also and burnt incense in the high places, and on the hills, and under every green tree. %%% N'aweerangayo n'ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi. 14C2H028.005 Wherefore the LORD his God delivered him into the hand of the king of Syria; and they smote him, and carried away a great multitude of them captives, and brought them to Damascus. And he was also delivered into the hand of the king of Israel, who smote him with a great slaughter. %%% Mukama Katonda we kyeyava amugabula mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli; ne bamukuba ne batwala ku babe ekibiina kinene eky'abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Era n'agabulwa mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri, n'amukuba olutta lunene. 14C2H028.006 For Pekah the son of Remaliah slew in Judah an hundred and twenty thousand in one day, which were all valiant men; because they had forsaken the LORD God of their fathers. %%% Kubanga Peka mutabani wa Lemaliya yatta mu Yuda ku lunaku lumu kasiriivu mu obukumi bubiri, bonna basajja bazira; kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 14C2H028.007 And Zichri, a mighty man of Ephraim, slew Maaseiah the king's son, and Azrikam the governor of the house, and Elkanah that was next to the king. %%% Zikuli omusajja ow'amaanyi owa Efulayimu n'atta Maaseya mutabani wa kabaka ne Azulikamu saabakaaki ne Erukaana eyaddirira kabaka. 14C2H028.008 And the children of Israel carried away captive of their brethren two hundred thousand, women, sons, and daughters, and took also away much spoil from them, and brought the spoil to Samaria. %%% Abaana ba Isiraeri ne batwala nga basibe ku baganda baabwe obusiriivu bubiri, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, era ne babaggyako omunyago mungi, ne baleeta omunyago e Samaliya. 14C2H028.009 But a prophet of the LORD was there, whose name was Oded: and he went out before the host that came to Samaria, and said unto them, Behold, because the LORD God of your fathers was wroth with Judah, he hath delivered them into your hand, and ye have slain them in a rage that reacheth up unto heaven. %%% Naye nnabbi wa Mukama yali eyo erinnya lye Odedi: naye n'afuluma okusisinkana eggye eryajja e Samaliya, n'abagamba nti Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abagabula mu mukono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu. 14C2H028.010 And now ye purpose to keep under the children of Judah and Jerusalem for bondmen and bondwomen unto you: but are there not with you, even with you, sins against the LORD your God? %%% Ne kaakano mwagala okufuga abaana ba Yuda ne Yerusaalemi, okuba gye muli abaddu n'abazaana: naye nammwe temuliiko byonoono byammwe mmwe bye mwayonoona Mukama Katonda wammwe? 14C2H028.011 Now hear me therefore, and deliver the captives again, which ye have taken captive of your brethren: for the fierce wrath of the LORD is upon you. %%% Kale nno mumpulire, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe: kubanga ekiruyi ekikambwe ekya Mukama kibaliko. 14C2H028.012 Then certain of the heads of the children of Ephraim, Azariah the son of Johanan, Berechiah the son of Meshillemoth, and Jehizkiah the son of Shallum, and Amasa the son of Hadlai, stood up against them that came from the war, %%% Awo abamu ku mitwe gy'abaana ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Salumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi ne bayimirira okuziyiza abo abaava mu ntalo, 14C2H028.013 And said unto them, Ye shall not bring in the captives hither: for whereas we have offended against the LORD already, ye intend to add more to our sins and to our trespass: for our trespass is great, and there is fierce wrath against Israel. %%% ne babagamba nti Temuyingizanga wano abasibe: kubanga mwagala ekyo ekirituleetako ekyonoono eri Mukama okwongera ku bibi byaffe ne ku kwonoona kwaffe: kubanga okwonoona kwaffe kunene, era waliwo ekiruyi ekikambwe eri Isiraeri. 14C2H028.014 So the armed men left the captives and the spoil before the princes and all the congregation. %%% Awo abasajja abakutte ebyokulwanyisa ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulu n'ekibiina kyonna. 14C2H028.015 And the men which were expressed by name rose up, and took the captives, and with the spoil clothed all that were naked among them, and arrayed them, and shod them, and gave them to eat and to drink, and anointed them, and carried all the feeble of them upon asses, and brought them to Jericho, the city of palm trees, to their brethren: then they returned to Samaria. %%% Abasajja abaatuddwa amannya gaabwe ne bagolokoka ne baddira abasibe, ne bambaza omunyago abo bonna mu bo abaali obwereere mu bo n'omunyago, ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta, ne basitulira ku ndogoyi bonna ku bo abanafu, ne babatuusa e Yeriko ekibuga eky'enkindu eri baganda baabwe; awo ne balyoka baddayo e Samaliya. 14C2H028.016 At that time did king Ahaz send unto the kings of Assyria to help him. %%% Mu biro ebyo kabaka Akazi n'atumira bakabaka b'e Bwasuli okumuyamba. 14C2H028.017 For again the Edomites had come and smitten Judah, and carried away captives. %%% Kubanga Abaedomu baali bazze olw'okubiri ne bakuba Yuda ne banyaga abasibe. 14C2H028.018 The Philistines also had invaded the cities of the low country, and of the south of Judah, and had taken Bethshemesh, and Ajalon, and Gederoth, and Shocho with the villages thereof, and Timnah with the villages thereof, Gimzo also and the villages thereof: and they dwelt there. %%% Era n'Abafirisuuti ne batabaala ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'omu bukiika obwa ddyo obwa Yuda, ne bamenya Besusemesi ne Ayalooni ne Gederosi ne Soko n'ebibuga byako ne Timuna n'ebibuga byako, Gimuzo nakyo n'ebibuga byako: ne babeeranga omwo. 14C2H028.019 For the LORD brought Judah low because of Ahaz king of Israel; for he made Judah naked, and transgressed sore against the LORD. %%% Kubanga Mukama yatoowaza Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri; kubanga yali akoze eby'ekyejo mu Yuda n'ayonoona nnyo Mukama. 14C2H028.020 And Tilgathpilneser king of Assyria came unto him, and distressed him, but strengthened him not. %%% Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amweraliikiriza naye n'atamuwa maanyi. 14C2H028.021 For Ahaz took away a portion out of the house of the LORD, and out of the house of the king, and of the princes, and gave it unto the king of Assyria: but he helped him not. %%% Kubanga Akazi yaggya ekitundu ky'ebintu mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka n'ey'abakulu, n'akiwa kabaka w'e Bwasuli: naye ne kitamuyamba. 14C2H028.022 And in the time of his distress did he trespass yet more against the LORD: this is that king Ahaz. %%% Ne mu kiseera mwe yalabira ennaku ne yeeyongera nate okusobya Mukama, oyo kabaka Akazi. 14C2H028.023 For he sacrificed unto the gods of Damascus, which smote him: and he said, Because the gods of the kings of Syria help them, therefore will I sacrifice to them, that they may help me. But they were the ruin of him, and of all Israel. %%% Kubanga yawaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaamukuba: n'ayogera nti Kubanga bakatonda ba bakabaka w'e Busuuli babayamba kyennaava mpaayo ssaddaaka eri bo bannyambe. Naye ne bamuzikiriza ne Isiraeri yenna. 14C2H028.024 And Ahaz gathered together the vessels of the house of God, and cut in pieces the vessels of the house of God, and shut up the doors of the house of the LORD, and he made him altars in every corner of Jerusalem. %%% Akazi n'akuŋŋaanya ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'atemaatema ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'aggalawo enzigi z'ennyumba ya Mukama; ne yeekolera ebyoto mu Yerusaalemi mu buli kafo. 14C2H028.025 And in every several city of Judah he made high places to burn incense unto other gods, and provoked to anger the LORD God of his fathers. %%% Ne mu buli kibuga kya Yuda kinnakimu n'akolamu ebifo ebigulumivu okwotereza obubaane bakatonda abalala, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe. 14C2H028.026 Now the rest of his acts and of all his ways, first and last, behold, they are written in the book of the kings of Judah and Israel. %%% Era ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri. 14C2H028.027 And Ahaz slept with his fathers, and they buried him in the city, even in Jerusalem: but they brought him not into the sepulchres of the kings of Israel: and Hezekiah his son reigned in his stead. %%% Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemi; kubanga tebaamuyingiza mu masiro ga bassekabaka ba Isiraeri: Keezeekiya mutabani we n'amuddira mu bigere. 14C2H029.001 Hezekiah began to reign when he was five and twenty years old, and he reigned nine and twenty years in Jerusalem. And his mother's name was Abijah, the daughter of Zechariah. %%% Keezeekiya yatanula okufuga nga yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abiya muwala wa Zekkaliya. 14C2H029.002 And he did that which was right in the sight of the LORD, according to all that David his father had done. %%% N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali Dawudi kitaawe bye yakolanga. 14C2H029.003 He in the first year of his reign, in the first month, opened the doors of the house of the LORD, and repaired them. %%% Mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe mu mwezi 'ogw'olubereberye n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama n'aziddaabiriza. 14C2H029.004 And he brought in the priests and the Levites, and gathered them together into the east street, %%% N'ayingiza bakabona n'Abaleevi n'abakuŋŋaanyiza mu kifo ekigazi ku luuyi olw'ebuvanjuba, 14C2H029.005 And said unto them, Hear me, ye Levites, sanctify now yourselves, and sanctify the house of the LORD God of your fathers, and carry forth the filthiness out of the holy place. %%% n'abagamba nti Mumpulire, mmwe Abaleevi; kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyeemu eby'obugwagwa mu kifo ekitukuvu. 14C2H029.006 For our fathers have trespassed, and done that which was evil in the eyes of the LORD our God, and have forsaken him, and have turned away their faces from the habitation of the LORD, and turned their backs. %%% Kubanga bajjajjaffe baasobyanga ne bakolanga ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi ne bamuleka ne bakyusa amaaso gaabwe okuva eri ekifo Mukama mw'abeera ne bakikuba amabega gaabwe. 14C2H029.007 Also they have shut up the doors of the porch, and put out the lamps, and have not burned incense nor offered burnt offerings in the holy place unto the God of Israel. %%% Era ne baggalawo enzigi z'ekisasi, ne bazikiza ettabaaza, so tebootezanga bubaane newakubadde okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa' mu kifo ekitukuvu eri Katonda wa Isiraeri. 14C2H029.008 Wherefore the wrath of the LORD was upon Judah and Jerusalem, and he hath delivered them to trouble, to astonishment, and to hissing, as ye see with your eyes. %%% Obusungu bwa Mukama kyebwavanga bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abawaddeyo okubayuuganya eruuyi n'eruuyi, okusamaalirirwa n'okusoozebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe. 14C2H029.009 For, lo, our fathers have fallen by the sword, and our sons and our daughters and our wives are in captivity for this. %%% Kubanga, laba, bakitaffe baagwa n'ekitala ne batabani baffe ne bawala baffe ne bakazi baffe kyebaava babeera mu busibe. 14C2H029.010 Now it is in mine heart to make a covenant with the LORD God of Israel, that his fierce wrath may turn away from us. %%% Era kiri mu mutima gwange okulagaana endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kituveeko. 14C2H029.011 My sons, be not now negligent: for the LORD hath chosen you to stand before him, to serve him, and that ye should minister unto him, and burn incense. %%% Baana bange, temutenguwanga nno: kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, era mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane. 14C2H029.012 Then the Levites arose, Mahath the son of Amasai, and Joel the son of Azariah, of the sons of the Kohathites: and of the sons of Merari, Kish the son of Abdi, and Azariah the son of Jehalelel: and of the Gershonites; Joah the son of Zimmah, and Eden the son of Joah: %%% Awo Abaleevi ne balyoka bagolokoka, Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya, ab'oku baana ba Bakokasi: n'ab'oku baana ba Merali, Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri: n'ab'oku Bagerusoni, Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa: 14C2H029.013 And of the sons of Elizaphan; Shimri, and Jeiel: and of the sons of Asaph; Zechariah, and Mattaniah: %%% n'ab'oku baana ba Erizafani, Simuli ne Yeweri: n'ab'oku baana ba Asafu, Zekkaliya ne Mattaniya 14C2H029.014 And of the sons of Heman; Jehiel, and Shimei: and of the sons of Jeduthun; Shemaiah, and Uzziel. %%% n'ab'oku baana ba Kemani, Yekweri ne Simeeyi: n'ab'oku baana ba Yedusuni, Semaaya ne Wuziyeeri 14C2H029.015 And they gathered their brethren, and sanctified themselves, and came, according to the commandment of the king, by the words of the LORD, to cleanse the house of the LORD. %%% Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza ne bayingira ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali olw'ekigambo kya Mukama, okulongoosa ennyumba ya Mukama. 14C2H029.016 And the priests went into the inner part of the house of the LORD, to cleanse it, and brought out all the uncleanness that they found in the temple of the LORD into the court of the house of the LORD. And the Levites took it, to carry it out abroad into the brook Kidron. %%% Bakabona ne bayingira mu luuyi olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama okugirongoosa, ne baggyamu eby'obugwagwa byonna bye baalaba mu yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babiddira okubifulumya ebweru eri akagga Kiduloni. 14C2H029.017 Now they began on the first day of the first month to sanctify, and on the eighth day of the month came they to the porch of the LORD: so they sanctified the house of the LORD in eight days; and in the sixteenth day of the first month they made an end. %%% Era ne basookera ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye okutukuza, ne ku lunaku olw'omwezi olw'omunaana ne batuuka ku kisasi kya Mukama; ne batukuza ennyumba ya Mukama nu nnaku munaana: ne ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogw'olubereberye ne bamalira ddala. 14C2H029.018 Then they went in to Hezekiah the king, and said, We have cleansed all the house of the LORD, and the altar of burnt offering, with all the vessels thereof, and the shewbread table, with all the vessels thereof. %%% Awo ne balyoka bayingira eri Keezeekiya kabaka munda w'eriyumba ne boogera nti Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna. 14C2H029.019 Moreover all the vessels, which king Ahaz in his reign did cast away in his transgression, have we prepared and sanctified, and, behold, they are before the altar of the LORD. %%% Era nate ebintu byonna kabaka Akazi bye yasuula bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza; era, laba, biri mu naaso g'ekyoto kya Mukama. 14C2H029.020 Then Hezekiah the king rose early, and gathered the rulers of the city, and went up to the house of the LORD. %%% Awo Keezeekiya kabaka n'agookoka mu makya, n'akuŋŋaanya abakulu b'ekibuga, n'ayambuka mu myumba ya Mukama. 14C2H029.021 And they brought seven bullocks, and seven rams, and seven lambs, and seven he goats, for a sin offering for the kingdom, and for the sanctuary, and for Judah. And he commanded the priests the sons of Aaron to offer them on the altar of the LORD. %%% Ne baleeta ente musanvu n'endiga ennune musanvu n'abaana b'endiga musanvu n'embuzi ennume musanvu okuba ekiweebwayo olw'ekibi olw'obwakabaka n'olw'ekigwa n'olwa Yuda. N'alagira bakabona batabani ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama. 14C2H029.022 So they killed the bullocks, and the priests received the blood, and sprinkled it on the altar: likewise, when they had killed the rams, they sprinkled the blood upon the altar: they killed also the lambs, and they sprinkled the blood upon the altar. %%% Awo ne batta ente, bakabona ne batoola omusaayi, ne bagumansira ku kyoto: ne batta embuzi ennume, ne banansira omusaayi ku kyoto: ne batta n'abaana b'endiga, ne bamansira omusaayi ku kyoto. 14C2H029.023 And they brought forth the he goats for the sin offering before the king and the congregation; and they laid their hands upon them: %%% Ne basembeza embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga kabaka n'ekibiina; ne baziteekako emikono: 14C2H029.024 And the priests killed them, and they made reconciliation with their blood upon the altar, to make an atonement for all Israel: for the king commanded that the burnt offering and the sin offering should be made for all Israel. %%% bakabona ne bazitta ne bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi n'omusaayi gwazo ku kyoto, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga zabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna. 14C2H029.025 And he set the Levites in the house of the LORD with cymbals, with psalteries, and with harps, according to the commandment of David, and of Gad the king's seer, and Nathan the prophet: for so was the commandment of the LORD by his prophets. %%% N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Gaadi omulabi wa kabaka n'ekya Nasani nnabbi: kubanga ekiragiro kyava eri Mukama mu bannabbi be. 14C2H029.026 And the Levites stood with the instruments of David, and the priests with the trumpets. %%% Abaleevi ne bayimirira nga balina ebintu bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakondeere. 14C2H029.027 And Hezekiah commanded to offer the burnt offering upon the altar. And when the burnt offering began, the song of the LORD began also with the trumpets, and with the instruments ordained by David king of Israel. %%% Keezeekiya n'alagira okuweerayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatanula okuweebwayo, era n'oluyimba lwa Mukama ne lutanula, n'amakondeere wamu n'ebintu bya Dawudi kabaka wa Isiraeri. 14C2H029.028 And all the congregation worshipped, and the singers sang, and the trumpeters sounded: and all this continued until the burnt offering was finished. %%% Awo ekibiina kyonna ne basinza abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakondeere ne bafuuwa; ebyo byonna ne byeyongera okubaawo okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo. 14C2H029.029 And when they had made an end of offering, the king and all that were present with him bowed themselves, and worshipped. %%% Awo bwe baamalira ddala okuwaayo, kabaka ne bonna abaali bali awo naye ne bavuunama ne basinza. 14C2H029.030 Moreover Hezekiah the king and the princes commanded the Levites to sing praise unto the LORD with the words of David, and of Asaph the seer. And they sang praises with gladness, and they bowed their heads and worshipped. %%% Era nate Keezeekiya kabaka n'abakulu ne balagira Abaleevi okuyimba okutendereza Mukama, mu bigambo bya Dawudi n'ebya Asafu omulabi. Ne bayimba okutendereza n'essanyu ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza. 14C2H029.031 Then Hezekiah answered and said, Now ye have consecrated yourselves unto the LORD, come near and bring sacrifices and thank offerings into the house of the LORD. And the congregation brought in sacrifices and thank offerings; and as many as were of a free heart burnt offerings. %%% Awo Keezeekiya n'addamu n'ayogera nti Kaakano nga mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaliza mu nnyumba ya Mukama. Ekibiina ne bayingiza ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza; ne bonna abaalina nmutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa. 14C2H029.032 And the number of the burnt offerings, which the congregation brought, was threescore and ten bullocks, an hundred rams, and two hundred lambs: all these were for a burnt offering to the LORD. %%% N'omuwendo gw'ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina bye baaleeta gwali ente nsanvu, endiga ennume kikumi, n'abaana b'endiga ebikumi bibiri: ebyo byonna byali bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 14C2H029.033 And the consecrated things were six hundred oxen and three thousand sheep. %%% N'ebintu ebyawongebwa byali ente lukaaga n'endiga enkumi ssatu. 14C2H029.034 But the priests were too few, so that they could not flay all the burnt offerings: wherefore their brethren the Levites did help them, till the work was ended, and until the other priests had sanctified themselves: for the Levites were more upright in heart to sanctify themselves than the priests. %%% Naye bakabona ne bayinga obutono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna: baganda baabwe Abaleevi kyebaava babayamba okutuusa omulimu lwe gwaggwaawo era okutuusa bakabona lwe baamala okwetukuza: kubanga Abaleevi baasinga bakabona okuba n'omutima omugolokofu okwetukuza. 14C2H029.035 And also the burnt offerings were in abundance, with the fat of the peace offerings, and the drink offerings for every burnt offering. So the service of the house of the LORD was set in order. %%% Era n'ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe n'ebiweebwayo ebyokunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuteekebwateekebwa bwe kutyo. 14C2H029.036 And Hezekiah rejoiced, and all the people, that God had prepared the people: for the thing was done suddenly. %%% Awo Keezeekiya n'asanyuka n'abantu bonna olw'ekyo Katonda kye yategekera abantu: kubanga ekigambo ekyo baakikolera awo mangu ago. 14C2H030.001 And Hezekiah sent to all Israel and Judah, and wrote letters also to Ephraim and Manasseh, that they should come to the house of the LORD at Jerusalem, to keep the passover unto the LORD God of Israel. %%% Awo Keezeekiya n'atumira Isiraeri yenna ne Yuda, era n'awandiikira ebbaluwa Efulayimu ne Manase, bajje mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri. 14C2H030.002 For the king had taken counsel, and his princes, and all the congregation in Jerusalem, to keep the passover in the second month. %%% Kubanga kabaka yali ateesezza ne bakulu be n'ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi okukwatira Okuyitako mu mwezi ogw'okubiri. 14C2H030.003 For they could not keep it at that time, because the priests had not sanctified themselves sufficiently, neither had the people gathered themselves together to Jerusalem. %%% Kubanga tebaayinza kukukwatira mu biro ebyo, kubanga bakabona baali tebannaba kwetukuza abangi ab'okumala, so n'abantu nga tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi. 14C2H030.004 And the thing pleased the king and all the congregation. %%% Ekigambo ekyo ne kiba kirungi mu maaso ga kabaka n'ekibiina kyonna. 14C2H030.005 So they established a decree to make proclamation throughout all Israel, from Beersheba even to Dan, that they should come to keep the passover unto the LORD God of Israel at Jerusalem: for they had not done it of a long time in such sort as it was written. %%% Awo ne bassaawo etteeka okulangira okubuna Isiraeri yenna okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, bajje okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga tebaakukwatanga abangi ennyo bwe batyo nga bwe kyawandiikibwa. 14C2H030.006 So the posts went with the letters from the king and his princes throughout all Israel and Judah, and according to the commandment of the king, saying, Ye children of Israel, turn again unto the LORD God of Abraham, Isaac, and Israel, and he will return to the remnant of you, that are escaped out of the hand of the kings of Assyria. %%% Awo ababaka ne bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be okubuna Isiraeri yonna ne Yuda, era ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nti Mmwe abaana ba Isiraeri, mukyukire nate Mukama Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, akomewo eri ekitundu kyammwe ekifisseewo ekiwonye mu mukono gwa bakabaka b'e Bwasuli. 14C2H030.007 And be not ye like your fathers, and like your brethren, which trespassed against the LORD God of their fathers, who therefore gave them up to desolation, as ye see. %%% So temufaanana bajjajjammwe ne baganda bammwe abaasobyanga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okuwaayo n'abawaayo eri okuzikirira nga bwe mulaba. 14C2H030.008 Now be ye not stiffnecked, as your fathers were, but yield yourselves unto the LORD, and enter into his sanctuary, which he hath sanctified for ever: and serve the LORD your God, that the fierceness of his wrath may turn away from you. %%% Kale mmwe temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali; naye mweweeyo eri Mukama, muyingire mu kigwa kye kye yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kibaveeko. 14C2H030.009 For if ye turn again unto the LORD, your brethren and your children shall find compassion before them that lead them captive, so that they shall come again into this land: for the LORD your God is gracious and merciful, and will not turn away his face from you, if ye return unto him. %%% Kubanga bwe munaakyukira nate Mukama, baganda bammwe n'abaana bammwe baliraba okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, ne bakomawo mu nsi eno: kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, asaasira, so taakyusenga amaaso ge okubavaako, mmwe bwe munaddanga gy'ali. 14C2H030.010 So the posts passed from city to city through the country of Ephraim and Manasseh even unto Zebulun: but they laughed them to scorn, and mocked them. %%% Awo ababaka ne bayita mu nsi ya Efulayimu n'eya Manase nga babuna ebibuga ne batuuka mu Zebbulooni: naye ne babasekerera nnyo ne babaduulira. 14C2H030.011 Nevertheless divers of Asher and Manasseh and of Zebulun humbled themselves, and came to Jerusalem. %%% Era naye abamu ku Aseri ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bajja e Yerusaalemi. 14C2H030.012 Also in Judah the hand of God was to give them one heart to do the commandment of the king and of the princes, by the word of the LORD. %%% Era ne mu Yuda ne muba omukono gwa Katonda okubawa omutima gumu n'okukola ekiragiro kya kabaka n'eky'abakulu olw'ekigambo kya Mukama. 14C2H030.013 And there assembled at Jerusalem much people to keep the feast of unleavened bread in the second month, a very great congregation. %%% Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi okukwata embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa mu mwezi ogw'okubiri, ekibiina kinene nnyo nnyini. 14C2H030.014 And they arose and took away the altars that were in Jerusalem, and all the altars for incense took they away, and cast them into the brook Kidron. %%% Ne bagolokoka ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi n'ebyoto byonna eby'obubaane ne babiggyawo, ne babisuula mu kagga Kidulooni. 14C2H030.015 Then they killed the passover on the fourteenth day of the second month: and the priests and the Levites were ashamed, and sanctified themselves, and brought in the burnt offerings into the house of the LORD. %%% Awo ne balyoka batta Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'okubiri: bakabona n'Abaleevi ne bakwatibwa ensonyi, ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama. 14C2H030.016 And they stood in their place after their manner, according to the law of Moses the man of God: the priests sprinkled the blood, which they received of the hand of the Levites. %%% Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa ng'amateeka bwe gali aga Musa omusajja wa Katonda: bakabona na bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gw'Abaleevi. 14C2H030.017 For there were many in the congregation that were not sanctified: therefore the Levites had the charge of the killing of the passovers for every one that was not clean, to sanctify them unto the LORD. %%% Kubanga mu kibiina mwalimu bangi abateetukuzizza: Abaleevi kyebaava balagirwa omulimu ogw'okutta Okuyitako olwa buli muntu ataali mulongoofu, okubatukuza eri Mukama. 14C2H030.018 For a multitude of the people, even many of Ephraim, and Manasseh, Issachar, and Zebulun, had not cleansed themselves, yet did they eat the passover otherwise than it was written. But Hezekiah prayed for them, saying, The good LORD pardon every one %%% Kubanga ku bantu bangi nnyo nnyini, bangi ku Efulayimu ne Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako naye si nga bwe kyawandiikibwa. Kubanga Keezeekiya yali abasabidde ng'ayogera nti Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu 14C2H030.019 That prepareth his heart to seek God, the LORD God of his fathers, though he be not cleansed according to the purification of the sanctuary. %%% asimba omutima gwe okunoonya Katonda Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, newakubadde nga talongoosebwa ng'okunaazibwa okw'omu kigwa bwe kuli. 14C2H030.020 And the LORD hearkened to Hezekiah, and healed the people. %%% Awo Mukama n'awulira Keezeekiya, n'awonya abantu. 14C2H030.021 And the children of Israel that were present at Jerusalem kept the feast of unleavened bread seven days with great gladness: and the Levites and the priests praised the LORD day by day, singing with loud instruments unto the LORD. %%% Abaana ba Isiraeri abaali bali awo e Yerusaalemi ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ennaku musanvu n'essanyu lingi: Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, nga bayimba n'ebintu ebivuga ennyo eri Mukama. 14C2H030.022 And Hezekiah spake comfortably unto all the Levites that taught the good knowledge of the LORD: and they did eat throughout the feast seven days, offering peace offerings, and making confession to the LORD God of their fathers. %%% Keezeekiya n'ayogera ebigambo eby'okusanyusa n'Abaleevi bonna abaalina amagezi mu kuweereza Mukama. Awo ne baliira ennaku omusanvu okumala embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga baatulira Mukama Katonda wa bajjajaabwe. 14C2H030.023 And the whole assembly took counsel to keep other seven days: and they kept other seven days with gladness. %%% Awo ekibiina kyonna ne bateesa ebigambo okukwata ennaku musanvu endala: ne bakwata ennaku musanvu endala n'essanyu. 14C2H030.024 For Hezekiah king of Judah did give to the congregation a thousand bullocks and seven thousand sheep; and the princes gave to the congregation a thousand bullocks and ten thousand sheep: and a great number of priests sanctified themselves. %%% Kubanga Keezeekiya kabaka wa Yuda n'awa ekibiina okuba ebiweebwayo ente lukumi n'endiga kasanvu; n'abakulu ne bawa ekibiina, ente lukumi n'endiga kakumi: ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza. 14C2H030.025 And all the congregation of Judah, with the priests and the Levites, and all the congregation that came out of Israel, and the strangers that came out of the land of Israel, and that dwelt in Judah, rejoiced. %%% Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'ekibiina kyonna ekyava mu Isiraeri n'abagenyi abaava mu nsi ya Isiraeri n'abatuula mu Yuda ne basanyuka. 14C2H030.026 So there was great joy in Jerusalem: for since the time of Solomon the son of David king of Israel there was not the like in Jerusalem. %%% Awo ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi: kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri tewabangawo ebifaanana ebyo mu Yerusaalemi: 14C2H030.027 Then the priests the Levites arose and blessed the people: and their voice was heard, and their prayer came up to his holy dwelling place, even unto heaven. %%% Awo bakabona Abaleevi ne bagolokoka ne basabira abantu omukisa: eddoboozi lyabwe ne liwulirwa, okusaba kwabwe ne kulinnya mu kifo ekitukuvu mw'abeera, mu ggulu. 14C2H031.001 Now when all this was finished, all Israel that were present went out to the cities of Judah, and brake the images in pieces, and cut down the groves, and threw down the high places and the altars out of all Judah and Benjamin, in Ephraim also and Manasseh, until they had utterly destroyed them all. Then all the children of Israel returned, every man to his possession, into their own cities. %%% Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Isiraeri yenna abaali bali awo ne bavaayo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi, ne batemaatema Baasera, ne bamenyera ddala ebifo ebigulumivu n'ebyoto mu Yuda yonna ne Benyamini, era ne mu Efulayimu ne Manase, okutuusa lwe baabizikiriza byonna. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo buli muntu mu butaka bwe, mu bibuga byabwe bo. 14C2H031.002 And Hezekiah appointed the courses of the priests and the Levites after their courses, every man according to his service, the priests and Levites for burnt offerings and for peace offerings, to minister, and to give thanks, and to praise in the gates of the tents of the LORD. %%% Awo Keezeekiya n'assaawo empalo za bakabona n'Abaleevi ng'empalo zaabwe bwe zaali, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, bakabona era n'Abaleevi, olw'ebiweebwayo ebyokebwa n'olw'ebiweebwayo olw'emirembe, okuweerezanga n'okwebazanga n'okutendererezanga mu nzigi ez'olusiisira lwa Mukama. 14C2H031.003 He appointed also the king's portion of his substance for the burnt offerings, to wit, for the morning and evening burnt offerings, and the burnt offerings for the sabbaths, and for the new moons, and for the set feasts, as it is written in the law of the LORD. %%% Era n'assaawo omugabo gwa kabaka ogw'oku bintu bye olw'ebiweebwayo ebyokebwa, olw'ebiweebwayo ebyokebwa eby'enkya n'eby'akawungeezi, n'ebiweebwayo ebya ssabbiiti n'eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama. 14C2H031.004 Moreover he commanded the people that dwelt in Jerusalem to give the portion of the priests and the Levites, that they might be encouraged in the law of the LORD. %%% Era nate n'alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n'Abaleevi, beeweeyo eri amateeka ga Mukama. 14C2H031.005 And as soon as the commandment came abroad, the children of Israel brought in abundance the firstfruits of corn, wine, and oil, and honey, and of all the increase of the field; and the tithe of all things brought they in abundantly. %%% Awo etteeka bwe lyalangirwa, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta bingi nnyo ebibereberye eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta n'omubisi gw'enjuki n'ebibala byonna eby'omu nnimiro, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu byonna ne bakireeta, bingi nnyo. 14C2H031.006 And concerning the children of Israel and Judah, that dwelt in the cities of Judah, they also brought in the tithe of oxen and sheep, and the tithe of holy things which were consecrated unto the LORD their God, and laid them by heaps. %%% Abaana ba Isiraeri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, era nabo ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'ente n'endiga, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo. 14C2H031.007 In the third month they began to lay the foundation of the heaps, and finished them in the seventh month. %%% Mu mwezi ogw'okusatu mwe baatanulira okutandika entuumo ne bazimalira mu mwezi ogw'omusanvu. 14C2H031.008 And when Hezekiah and the princes came and saw the heaps, they blessed the LORD, and his people Israel. %%% Awo Keezeekiya n'abakulu bwe bajja ne balaba entuumo, ne beebaza Mukama n'abantu be Isiraeri. 14C2H031.009 Then Hezekiah questioned with the priests and the Levites concerning the heaps. %%% Awo Keezeekiya n'abuuzagana ne bakabona n'Abaleevi eby'entuumo. 14C2H031.010 And Azariah the chief priest of the house of Zadok answered him, and said, Since the people began to bring the offerings into the house of the LORD, we have had enough to eat, and have left plenty: for the LORD hath blessed his people; and that which is left is this great store. %%% Azaliya kabona asinga obukulu ow'omu nnyumba ya Zadoki n'amuddamu n'ayogera nti Abantu kasookedde batanula okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, nga tulya nga tukkuta nga tulemerwa ddala: kubanga Mukama awadde abantu be omukisa; n'ebyo ebifisseewo bye bintu bino ebyenkanidde awo. 14C2H031.011 Then Hezekiah commanded to prepare chambers in the house of the LORD; and they prepared them, %%% Awo Keezeekiya n'alyoka alagira okutegeka enju mu nnyumba ya Mukama; ne bazitegeka. 14C2H031.012 And brought in the offerings and the tithes and the dedicated things faithfully: over which Cononiah the Levite was ruler, and Shimei his brother was the next. %%% Ne bayingiza ebitone n'ebitundu eby'ekkumi n'ebintu ebyawongebwa, n'obwesigwa: era Konaniya Omuleevi ye yali omukulu waabwe, ne Simeeyi muganda we ye yamuddirira. 14C2H031.013 And Jehiel, and Azaziah, and Nahath, and Asahel, and Jerimoth, and Jozabad, and Eliel, and Ismachiah, and Mahath, and Benaiah, were overseers under the hand of Cononiah and Shimei his brother, at the commandment of Hezekiah the king, and Azariah the ruler of the house of God. %%% Ne Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, ne Yozabadi, ne Eryezi, ne Isumakiya, ne Makasi, ne Benaya be baali balabirizi wansi w'omukono gwa Konaniya ne Simeeyi muganda we olw'ekiragiro kya Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w'ennyumba ya Katonda. 14C2H031.014 And Kore the son of Imnah the Levite, the porter toward the east, was over the freewill offerings of God, to distribute the oblations of the LORD, and the most holy things. %%% Ne Kole mutabani va Imuna Omuleevi, omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba, ye yali omukulu w'ebyo bye baawaayo eri Katonda ku bwabwe, okugaba ebirabo bya Mukama n'ebintu ebitukuvu ennyo. 14C2H031.015 And next him were Eden, and Miniamin, and Jeshua, and Shemaiah, Amariah, and Shecaniah, in the cities of the priests, in their set office, to give to their brethren by courses, as well to the great as to the small: %%% Era wansi w'oyo Edene ne Miniyamini ne Yesuwa ne Semaaya, Amaliya ne Sekaniya, mu bibuga bya bakabona, mu mulimu gwabwe ogwalagirwa, okuwanga baganda baabwe mu mpalo, abakulu era n'abato: 14C2H031.016 Beside their genealogy of males, from three years old and upward, even unto every one that entereth into the house of the LORD, his daily portion for their service in their charges according to their courses; %%% obutassaako abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasajja bwe kwali, abaakamaze emyaka esatu n'okukirawo, buli eyayingira mu nnyumba ya Mukama, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, olw'okuweereza kwabwe mu ebyo bye baalagirwa, ng'empalo zaabwe bwe zaali; 14C2H031.017 Both to the genealogy of the priests by the house of their fathers, and the Levites from twenty years old and upward, in their charges by their courses; %%% n'abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku bakabona ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, n'Abaleevi abakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo, mu ebyo bye baalagirwa ng'empalo zaabwe bwe zaali; 14C2H031.018 And to the genealogy of all their little ones, their wives, and their sons, and their daughters, through all the congregation: for in their set office they sanctified themselves in holiness: %%% n'abo abaabalibwa ng'okuzaabwa kwabwe bwe kwali ku baana baabwe bonna abato, abakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe, okubuna ekibiina kyonna: ubanga beetukuza mu butukuvu mu mulimu gwabwe ogwalagirwa: 14C2H031.019 Also of the sons of Aaron the priests, which were in the fields of the suburbs of their cities, in every several city, the men that were expressed by name, to give portions to all the males among the priests, and to all that were reckoned by genealogies among the Levites. %%% era olwa batabani ba Alooni bakabona abaali mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe, mu buli kibuga kinnakimu, mwalimu abasajja abaayatulwa amannya gaawe okuwa emigabo abasajja bonna ab'omu bakabona n'abo bonna abaabalibwa ng'okuzaalibwa bwe kwali mu Baleevi. 14C2H031.020 And thus did Hezekiah throughout all Judah, and wrought that which was good and right and truth before the LORD his God. %%% Era bw'atyo Keezekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna; n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga era eby'obwesigwa. 14C2H031.021 And in every work that he began in the service of the house of God, and in the law, and in the commandments, to seek his God, he did it with all his heart, and prospered. %%% N'omulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda ne mu mateeka ne mu biragiro okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima gwe gwonna, n'alaba omukisa. 14C2H032.001 After these things, and the establishment thereof, Sennacherib king of Assyria came, and entered into Judah, and encamped against the fenced cities, and thought to win them for himself. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo n'obwesigwa obwo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'ayingira mu Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko enkomera, n'alowooza okubyeriira. 14C2H032.002 And when Hezekiah saw that Sennacherib was come, and that he was purposed to fight against Jerusalem, %%% Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwana ne Yerusaalemi, 14C2H032.003 He took counsel with his princes and his mighty men to stop the waters of the fountains which were without the city: and they did help him. %%% n'ateesa n'abakulu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba amazzi ag'omu nzizi ezaali ebweru w'ekibuga; ne bamuyamba. 14C2H032.004 So there was gathered much people together, who stopped all the fountains, and the brook that ran through the midst of the land, saying, Why should the kings of Assyria come, and find much water? %%% Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n'akagga akayita wakati mu nsi nga boogera nti Bakabaka b'e Bwasuli okujja ne basanga amazzi amangi lwaki? 14C2H032.005 Also he strengthened himself, and built up all the wall that was broken, and raised it up to the towers, and another wall without, and repaired Millo in the city of David, and made darts and shields in abundance. %%% N'aguma omwoyo n'azimba bbugwe yenna eyali amenyese n'amugulumiza okwenkana n'ebigo, ne bbugwe omulala ebweru, n'anyweza Mirro mu kibuga kya Dawudi, n'akola ebyokulwanyisa n'engabo bingi nnyo. 14C2H032.006 And he set captains of war over the people, and gathered them together to him in the street of the gate of the city, and spake comfortably to them, saying, %%% N'assaawo abaami abalwanyi okufuga abantu, n'abakuŋŋaanyiza gy'ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okusanyusa nti 14C2H032.007 Be strong and courageous, be not afraid nor dismayed for the king of Assyria, nor for all the multitude that is with him: for there be more with us than with him: %%% Mube n'amaanyi mugume emyoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w'e Bwasuli newakubadde eggye lyonna eriri naye: kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye: 14C2H032.008 With him is an arm of flesh; but with us is the LORD our God to help us, and to fight our battles. And the people rested themselves upon the words of Hezekiah king of Judah. %%% wamu naye waliwo omukono ogw'omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe. Abantu ne banywerera ku bigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda. 14C2H032.009 After this did Sennacherib king of Assyria send his servants to Jerusalem, (but he himself laid siege against Lachish, and all his power with him,) unto Hezekiah king of Judah, and unto all Judah that were at Jerusalem, saying, %%% Oluvannyuma lw'ebyo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atuma abaddu be e Yerusaalemi (era yali ng'ayolekedde Lakisi n'amaanyi ge gonna wamu naye,) eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri Yuda yenna abaali e Yerusaalemi, ng'ayogera nti 14C2H032.010 Thus saith Sennacherib king of Assyria, Whereon do ye trust, that ye abide in the siege in Jerusalem? %%% Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi? 14C2H032.011 Doth not Hezekiah persuade you to give over yourselves to die by famine and by thirst, saying, The LORD our God shall deliver us out of the hand of the king of Assyria? %%% Keezeekiya tabasendasenda okubawaayo okufa enjala n'ennyonta, ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe alituwonya mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli? 14C2H032.012 Hath not the same Hezekiah taken away his high places and his altars, and commanded Judah and Jerusalem, saying, Ye shall worship before one altar, and burn incense upon it? %%% Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane? 14C2H032.013 Know ye not what I and my fathers have done unto all the people of other lands? were the gods of the nations of those lands any ways able to deliver their lands out of mine hand? %%% Temumanyi nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Bakatonda b'amawanga ag'omu nsi ezo baayinza n'akatono okuwonya ensi zaabwe mu mukono gwange? 14C2H032.014 Who was there among all the gods of those nations that my fathers utterly destroyed, that could deliver his people out of mine hand, that your God should be able to deliver you out of mine hand? %%% Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe ayinze okubawonya mu mukono gwange? 14C2H032.015 Now therefore let not Hezekiah deceive you, nor persuade you on this manner, neither yet believe him: for no god of any nation or kingdom was able to deliver his people out of mine hand, and out of the hand of my fathers: how much less shall your God deliver you out of mine hand? %%% Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubasendasenda bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange: kale okusinga ennyo Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange? 14C2H032.016 And his servants spake yet more against the LORD God, and against his servant Hezekiah. %%% Abaddu be ne beeyongera okuvuma Mukama Katonda n'omuddu we Keezeekiya. 14C2H032.017 He wrote also letters to rail on the LORD God of Israel, and to speak against him, saying, As the gods of the nations of other lands have not delivered their people out of mine hand, so shall not the God of Hezekiah deliver his people out of mine hand. %%% Era n'awandiika okuvvoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala abataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'ataliwonya bantu be mu mukono gwange. 14C2H032.018 Then they cried with a loud voice in the Jews' speech unto the people of Jerusalem that were on the wall, to affright them, and to trouble them; that they might take the city. %%% Ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubeeraliikiriza; balyoke bamenye ekibuga. 14C2H032.019 And they spake against the God of Jerusalem, as against the gods of the people of the earth, which were the work of the hands of man. %%% Ne boogera ku Katonda ow'e Yerusaalemi nga bamufaananya bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi omulimu gw'emikono gy'abantu. 14C2H032.020 And for this cause Hezekiah the king, and the prophet Isaiah the son of Amoz, prayed and cried to heaven. %%% Keezeekiya kabaka ne Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi ne basaba olw'ekigambo ekyo ne bakaaba eri eggulu. 14C2H032.021 And the LORD sent an angel, which cut off all the mighty men of valour, and the leaders and captains in the camp of the king of Assyria. So he returned with shame of face to his own land. And when he was come into the house of his god, they that came forth of his own bowels slew him there with the sword. %%% Mukama n'atuma malayika n'amalawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abakulu n'abaami mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Awo n'addayo mu nsi ye amaaso ge nga gakwatiddwa ensonyi: Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abo abaava mu ntumbwe ze ye ne bamuttira eyo n'ekitala. 14C2H032.022 Thus the LORD saved Hezekiah and the inhabitants of Jerusalem from the hand of Sennacherib the king of Assyria, and from the hand of all other, and guided them on every side. %%% Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna. 14C2H032.023 And many brought gifts unto the LORD to Jerusalem, and presents to Hezekiah king of Judah: so that he was magnified in the sight of all nations from thenceforth. %%% Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, n'ebintu eby'omuwendo omungi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda: n'okugulumizibwa n'agulumizibwa mu maaso g'amawanga gonna okuva ku lunaku olwo. 14C2H032.024 In those days Hezekiah was sick to the death, and prayed unto the LORD: and he spake unto him, and he gave him a sign. %%% Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa: n'asaba Mukama; n'ayogera naye n'amuwa akabonero. 14C2H032.025 But Hezekiah rendered not again according to the benefit done unto him; for his heart was lifted up: therefore there was wrath upon him, and upon Judah and Jerusalem. %%% Naye Keezeekiya n'atasasula nate ng'ekisa bwe kyali kye yakolwa; kubanga omutima gwe gwegulumiza: obusungu kyebwava bubeera ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi. 14C2H032.026 Notwithstanding Hezekiah humbled himself for the pride of his heart, both he and the inhabitants of Jerusalem, so that the wrath of the LORD came not upon them in the days of Hezekiah. %%% Era naye Keezeekiya ne yeetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, ye n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi, obusungu bwa Mukama ne butabatuukako ku mirembe gya Keezeekiya. 14C2H032.027 And Hezekiah had exceeding much riches and honour: and he made himself treasuries for silver, and for gold, and for precious stones, and for spices, and for shields, and for all manner of pleasant jewels; %%% Era Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini: ne yeefunira amawanika aga ffeeza n'aga zaabu n'ag'amayinja ag'omuwendo omungi n'ag'eby'akaloosa n'ag'engabo n'ag'ebintu byonna ebirungi; 14C2H032.028 Storehouses also for the increase of corn, and wine, and oil; and stalls for all manner of beasts, and cotes for flocks. %%% era n'ennyumba ez'okuterekeramu omwaka ogw'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta: n'ennyumba ez'ebisolo eby'engeri zonna n'amagana mu bisibo. 14C2H032.029 Moreover he provided him cities, and possessions of flocks and herds in abundance: for God had given him substance very much. %%% Era ne yeefunira ebibuga n'embuzi n'ente bye yalina bingi nnyo: kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo nnyini. 14C2H032.030 This same Hezekiah also stopped the upper watercourse of Gihon, and brought it straight down to the west side of the city of David. And Hezekiah prospered in all his works. %%% Oyo Keezeekiya n'aziba oluzzi olwa waggulu olw'amazzi aga Gikoni, n'agaluŋŋamya okugaserengeseza ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya n'alaba omukisa mu mirimu gye gyonna. 14C2H032.031 Howbeit in the business of the ambassadors of the princes of Babylon, who sent unto him to enquire of the wonder that was done in the land, God left him, to try him, that he might know all that was in his heart. %%% Naye mu bigambo by'ababaka b'abakulu b'e Babulooni abaamutumira okubuuza eky'amagero ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amuleka okumukema alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe. 14C2H032.032 Now the rest of the acts of Hezekiah, and his goodness, behold, they are written in the vision of Isaiah the prophet, the son of Amoz, and in the book of the kings of Judah and Israel. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya n'ebirungi bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri. 14C2H032.033 And Hezekiah slept with his fathers, and they buried him in the chiefest of the sepulchres of the sons of David: and all Judah and the inhabitants of Jerusalem did him honour at his death. And Manasseh his son reigned in his stead. %%% Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika awalinnyirwa mu masiro ga batabani ba Dawudi: Yuda yenna n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manase mutabani we n'amuddira mu bigere. 14C2H033.001 Manasseh was twelve years old when he began to reign, and he reigned fifty and five years in Jerusalem: %%% Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. 14C2H033.002 But did that which was evil in the sight of the LORD, like unto the abominations of the heathen, whom the LORD had cast out before the children of Israel. %%% N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 14C2H033.003 For he built again the high places which Hezekiah his father had broken down, and he reared up altars for Baalim, and made groves, and worshipped all the host of heaven, and served them. %%% Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Baasera n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza. 14C2H033.004 Also he built altars in the house of the LORD, whereof the LORD had said, In Jerusalem shall my name be for ever. %%% N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna. 14C2H033.005 And he built altars for all the host of heaven in the two courts of the house of the LORD. %%% Era n'azimbira eggye lyonna ery'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama. 14C2H033.006 And he caused his children to pass through the fire in the valley of the son of Hinnom: also he observed times, and used enchantments, and used witchcraft, and dealt with a familiar spirit, and with wizards: he wrought much evil in the sight of the LORD, to provoke him to anger. %%% Era n'ayisa mu muliro abaana be mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n'alaguza ebire n'aba n'eby'obulogo n'eby'obuganga: n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza. 14C2H033.007 And he set a carved image, the idol which he had made, in the house of God, of which God had said to David and to Solomon his son, In this house, and in Jerusalem, which I have chosen before all the tribes of Israel, will I put my name for ever: %%% N'asimba ekifaananyi ekyole eky'esanamu kye yakola mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri we nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna: 14C2H033.008 Neither will I any more remove the foot of Israel from out of the land which I have appointed for your fathers; so that they will take heed to do all that I have commanded them, according to the whole law and the statutes and the ordinances by the hand of Moses. %%% so sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnateekerawo bajjajjammwe; bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo mu mukono gwa Musa. 14C2H033.009 So Manasseh made Judah and the inhabitants of Jerusalem to err, and to do worse than the heathen, whom the LORD had destroyed before the children of Israel. %%% Manase n'awabya Yuda n'abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g'abaanai ba Isiraeri. 14C2H033.010 And the LORD spake to Manasseh, and to his people: but they would not hearken. %%% Mukama n'ayogerako ne Manase n'abantu be: naye ne batawulira. 14C2H033.011 Wherefore the LORD brought upon them the captains of the host of the king of Assyria, which took Manasseh among the thorns, and bound him with fetters, and carried him to Babylon. %%% Mukama kyeyava abaleetako abaami b'eggye lya kabaka w'e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n'amasamba, ne bamutwala e Babulooni. 14C2H033.012 And when he was in affliction, he besought the LORD his God, and humbled himself greatly before the God of his fathers, %%% Awo bwe yalaba ennaku, ne yeegayirira Mukama Katonda we ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 14C2H033.013 And prayed unto him: and he was intreated of him, and heard his supplication, and brought him again to Jerusalem into his kingdom. Then Manasseh knew that the LORD he was God. %%% N'amusaba; ne yeegayirirwa ye n'awulira okwegayirira kwe n'amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n'amanya Mukama nga ye Katonda. 14C2H033.014 Now after this he built a wall without the city of David, on the west side of Gihon, in the valley, even to the entering in at the fish gate, and compassed about Ophel, and raised it up a very great height, and put captains of war in all the fenced cities of Judah. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo n'azimba bbugwe ow'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku luuyi lwa Gikoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu mulyango ogw'ebyennyanja; ne yeetoolooza Oferi n'akigulumiza waggulu nnyo nnyini: n'ateeka abaami abazira mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera. 14C2H033.015 And he took away the strange gods, and the idol out of the house of the LORD, and all the altars that he had built in the mount of the house of the LORD, and in Jerusalem, and cast them out of the city. %%% N'aggyawo bakatonda ab'amawanga n'ekifaananyi mu nnyuniba ya Mukama n'ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw'ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, n'abisuula ebweru w'ekibuga. 14C2H033.016 And he repaired the altar of the LORD, and sacrificed thereon peace offerings and thank offerings, and commanded Judah to serve the LORD God of Israel. %%% N'azimba obuggya ekyoto kya Mukama n'aweerayo okwo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe n'ez'okwebaza, n'alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri. 14C2H033.017 Nevertheless the people did sacrifice still in the high places, yet unto the LORD their God only. %%% Naye abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, naye eri Mukama Katonda waabwe yekka. 14C2H033.018 Now the rest of the acts of Manasseh, and his prayer unto his God, and the words of the seers that spake to him in the name of the LORD God of Israel, behold, they are written in the book of the kings of Israel. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n'okusaba kwe yasaba Katonda we n'ebigambo by'abalabi abaayogereranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, laba, byawandiikibwa mu bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri. 14C2H033.019 His prayer also, and how God was intreated of him, and all his sins, and his trespass, and the places wherein he built high places, and set up groves and graven images, before he was humbled: behold, they are written among the sayings of the seers. %%% N'okusaba kwe era Katonda bwe yeegayirirwa ye n'okwonoona kwe kwonna n'okusobya kwe n'ebifo mwe yazimbira ebifo ebigulumivu n'asimba Baasera n'ebifaananyi ebyole nga tannaba kwetoowaza: laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Kozayi. 14C2H033.020 So Manasseh slept with his fathers, and they buried him in his own house: and Amon his son reigned in his stead. %%% Awo Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu nnyumba ye ye: Amoni mutabani we n'amuddira mu bigere. 14C2H033.021 Amon was two and twenty years old when he began to reign, and reigned two years in Jerusalem. %%% Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi. 14C2H033.022 But he did that which was evil in the sight of the LORD, as did Manasseh his father: for Amon sacrificed unto all the carved images which Manasseh his father had made, and served them; %%% N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakolanga: Amoni n'awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna Manase kitaawe bye yakola n'abiweerezanga. 14C2H033.023 And humbled not himself before the LORD, as Manasseh his father had humbled himself; but Amon trespassed more and more. %%% N'ateetoowaza mu maaso ga Mukama nga Manase kitaawe bwe yeetoowaza; naye Amoni oyo ne yeeyongerayongeranga okusobya. 14C2H033.024 And his servants conspired against him, and slew him in his own house. %%% Abaddu be ne bamwekobaana ne bamuttira mu nnyumba ye ye. 14C2H033.025 But the people of the land slew all them that had conspired against king Amon; and the people of the land made Josiah his son king in his stead. %%% Naye abantu ab'omu nsi ne batta bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye. 14C2H034.001 Josiah was eight years old when he began to reign, and he reigned in Jerusalem one and thirty years. %%% Yosiya yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi. 14C2H034.002 And he did that which was right in the sight of the LORD, and walked in the ways of David his father, and declined neither to the right hand, nor to the left. %%% N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambuliranga mu maknbo ga Dawudi kitaawe n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono. 14C2H034.003 For in the eighth year of his reign, while he was yet young, he began to seek after the God of David his father: and in the twelfth year he began to purge Judah and Jerusalem from the high places, and the groves, and the carved images, and the molten images. %%% Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atanula okunoonya Katonda wa Dawudi kitaawe: ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri mwe yatanulira okulongoosa Yuda ne Yerusaalemi okumalamu ebifo ebigulumivu ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse. 14C2H034.004 And they brake down the altars of Baalim in his presence; and the images, that were on high above them, he cut down; and the groves, and the carved images, and the molten images, he brake in pieces, and made dust of them, and strowed it upon the graves of them that had sacrificed unto them. %%% Ne bamenyaamenyera ebyoto bya Babaali mu maaso ge; n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema; ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga. 14C2H034.005 And he burnt the bones of the priests upon their altars, and cleansed Judah and Jerusalem. %%% Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi. 14C2H034.006 And so did he in the cities of Manasseh, and Ephraim, and Simeon, even unto Naphtali, with their mattocks round about. %%% Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manase ne Efulayimu ne Simyoni okutuuka ku Nafutaali mu matongo gaabyo enjuyi zonna. 14C2H034.007 And when he had broken down the altars and the groves, and had beaten the graven images into powder, and cut down all the idols throughout all the land of Israel, he returned to Jerusalem. %%% N'amenyaamenya ebyoto, n'asekula Baasera n'ebifaananyi ebyole n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebifaananyi byonna eby'enjuba okubuna ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi. 14C2H034.008 Now in the eighteenth year of his reign, when he had purged the land, and the house, he sent Shaphan the son of Azaliah, and Maaseiah the governor of the city, and Joah the son of Joahaz the recorder, to repair the house of the LORD his God. %%% Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'okufuga kwe bwe yamala okulongoosa ensi n'ennyumba, n'atuma Safani mutabani wa Azaliya ne Maaseya eyafuga ekibuga ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we. 14C2H034.009 And when they came to Hilkiah the high priest, they delivered the money that was brought into the house of God, which the Levites that kept the doors had gathered of the hand of Manasseh and Ephraim, and of all the remnant of Israel, and of all Judah and Benjamin; and they returned to Jerusalem. %%% Ne bajja eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu mukono gwa Manase ne Efulayimu ne ku kitundu kyonna ekya Isiraeri ekifisseewo ne ku Yuda yenna ne Benyamini ne ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi. 14C2H034.010 And they put it in the hand of the workmen that had the oversight of the house of the LORD, and they gave it to the workmen that wrought in the house of the LORD, to repair and amend the house: %%% Ne bagiwaayo mu mukono gw'abakozi abaalabiriranga ennyumba ya Mukama; abakozi abaakola omulimu mu nnyumba ya Mukama ne bagiwa okulongoosa n'okuddaabiriza ennyumba; 14C2H034.011 Even to the artificers and builders gave they it, to buy hewn stone, and timber for couplings, and to floor the houses which the kings of Judah had destroyed. %%% baagiwa ababazzi n'abazimbi, okugula amayinja amabajje n'emiti egy'okuyunga n'okubajja emiti egy'ennyumba bassekabaka ba Yuda ze baazikirizanga. 14C2H034.012 And the men did the work faithfully: and the overseers of them were Jahath and Obadiah, the Levites, of the sons of Merari; and Zechariah and Meshullam, of the sons of the Kohathites, to set it forward; and other of the Levites, all that could skill of instruments of musick. %%% Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa: abalabirizi baabwe be bano, Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'oku batabani ba Merali; ne Zekkaliya ne Mesullamu, ab'oku batabani b'Abakokasi, okugikoza: n'abalala ku Baleevi, bonna abalina amagezi ag'ebintu ebivuga. 14C2H034.013 Also they were over the bearers of burdens, and were overseers of all that wrought the work in any manner of service: and of the Levites there were scribes, and officers, and porters. %%% Era baalabirira abeetissi b'emigugu, ne bakoza bonna abaakola omulimu mu kuweereza okw'engeri zonna: ne ku Baleevi kwaliko abawandiisi n'abaami n'abaggazi. 14C2H034.014 And when they brought out the money that was brought into the house of the LORD, Hilkiah the priest found a book of the law of the LORD given by Moses. %%% Awo bwe baggyamu effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'amateeka ga Mukama agaaweerwa mu mukono gwa Musa. 14C2H034.015 And Hilkiah answered and said to Shaphan the scribe, I have found the book of the law in the house of the LORD. And Hilkiah delivered the book to Shaphan. %%% Awo Kirukiya n'addamu n'agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Kirukiya n'awa Safani ekitabo. 14C2H034.016 And Shaphan carried the book to the king, and brought the king word back again, saying, All that was committed to thy servants, they do it. %%% Awo Safani n'atwala ekitabo eri kabaka, era n'addiza kabaka ebigambo nti Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola. 14C2H034.017 And they have gathered together the money that was found in the house of the LORD, and have delivered it into the hand of the overseers, and to the hand of the workmen. %%% Era baggyeemu effeeza ezaasangibwa mu nnyumba ya Mukama ne baziwa mu mukono gw'abalabirizi ne mu mukono gw'abakozi. 14C2H034.018 Then Shaphan the scribe told the king, saying, Hilkiah the priest hath given me a book. And Shaphan read it before the king. %%% Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'asoma omwo mu maaso ga kabaka. 14C2H034.019 And it came to pass, when the king had heard the words of the law, that he rent his clothes. %%% Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'amateeka n'ayuza ebyambalo bye. 14C2H034.020 And the king commanded Hilkiah, and Ahikam the son of Shaphan, and Abdon the son of Micah, and Shaphan the scribe, and Asaiah a servant of the king's, saying, %%% Awo kabaka n'alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani ne Abudoni mutabani wa Mikka ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka ng'ayogera nti 14C2H034.021 Go, enquire of the LORD for me, and for them that are left in Israel and in Judah, concerning the words of the book that is found: for great is the wrath of the LORD that is poured out upon us, because our fathers have not kept the word of the LORD, to do after all that is written in this book. %%% Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abo abasigadde mu Isiraeri ne mu Yuda, eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino. 14C2H034.022 And Hilkiah, and they that the king had appointed, went to Huldah the prophetess, the wife of Shallum the son of Tikvath, the son of Hasrah, keeper of the wardrobe; (now she dwelt in Jerusalem in the college:) and they spake to her to that effect. %%% Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali alagidde ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tokasi mutabani wa Kasula omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye bwe batyo. 14C2H034.023 And she answered them, Thus saith the LORD God of Israel, Tell ye the man that sent you to me, %%% Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti 14C2H034.024 Thus saith the LORD, Behold, I will bring evil upon this place, and upon the inhabitants thereof, even all the curses that are written in the book which they have read before the king of Judah: %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomye mu maaso ga kabaka lwa Yuda: 14C2H034.025 Because they have forsaken me, and have burned incense unto other gods, that they might provoke me to anger with all the works of their hands; therefore my wrath shall be poured out upon this place, and shall not be quenched. %%% kubanga banvuddeko ne bookera obubaane bakatonda abalala, bansuguwaze n'emirimu gyonna egy'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuvudde bufukibwa ku kifo kino so tebulizikira. 14C2H034.026 And as for the king of Judah, who sent you to enquire of the LORD, so shall ye say unto him, Thus saith the LORD God of Israel concerning the words which thou hast heard; %%% Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde, 14C2H034.027 Because thine heart was tender, and thou didst humble thyself before God, when thou heardest his words against this place, and against the inhabitants thereof, and humbledst thyself before me, and didst rend thy clothes, and weep before me; I have even heard thee also, saith the LORD. %%% kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda bw'owulidde ebigambo bye ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo n'okaabira amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama. 14C2H034.028 Behold, I will gather thee to thy fathers, and thou shalt be gathered to thy grave in peace, neither shall thine eyes see all the evil that I will bring upon this place, and upon the inhabitants of the same. So they brought the king word again. %%% Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino ne ku abo abakirimu. Ne baddiza kabaka ebigambo. 14C2H034.029 Then the king sent and gathered together all the elders of Judah and Jerusalem. %%% Awo kabaka n'atuma, n'akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yerusaalemi. 14C2H034.030 And the king went up into the house of the LORD, and all the men of Judah, and the inhabitants of Jerusalem, and the priests, and the Levites, and all the people, great and small: and he read in their ears all the words of the book of the covenant that was found in the house of the LORD. %%% Kabaka n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi ne bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asomera mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama. 14C2H034.031 And the king stood in his place, and made a covenant before the LORD, to walk after the LORD, and to keep his commandments, and his testimonies, and his statutes, with all his heart, and with all his soul, to perform the words of the covenant which are written in this book. %%% Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambulanga okugobereranga Mukama n'okukwatanga amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna, okutuukiriza ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino. 14C2H034.032 And he caused all that were present in Jerusalem and Benjamin to stand to it. And the inhabitants of Jerusalem did according to the covenant of God, the God of their fathers. %%% Awo n'awaliriza bonna abaalabika mu Yerusaalemi ne Benyamini okugyesibira. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali. 14C2H034.033 And Josiah took away all the abominations out of all the countries that pertained to the children of Israel, and made all that were present in Israel to serve, even to serve the LORD their God. And all his days they departed not from following the LORD, the God of their fathers. %%% Yosiya n'aggya emizizo gyonna mu nsi zonna ez'abaana ba Isiraeri, n'aweerezesa bonna abaalabika mu Isiraeri, okuweereza Mukama Katonda waabwe. Ennaku ze zonna tebaalekanga kugoberera Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. 14C2H035.001 Moreover Josiah kept a passover unto the LORD in Jerusalem: and they killed the passover on the fourteenth day of the first month. %%% Awo Yosiya n'akwata Okuyitako eri Mukama mu Yerusaalemi: ne batta Okuyitako ku (lunaku) olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye. 14C2H035.002 And he set the priests in their charges, and encouraged them to the service of the house of the LORD, %%% N'ateeka bakabona mu ebyo bye baalagirwa n'abagumya omwoyo olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama. 14C2H035.003 And said unto the Levites that taught all Israel, which were holy unto the LORD, Put the holy ark in the house which Solomon the son of David king of Israel did build; it shall not be a burden upon your shoulders: serve now the LORD your God, and his people Israel, %%% N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, abatukuvu eri Mukama, nti Muteeke essanduuko entukuvu mu nnyumba Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri gye yazimba; tewakyabeera mugugu ku bibegabega byammwe: muweereze nno Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri. 14C2H035.004 And prepare yourselves by the houses of your fathers, after your courses, according to the writing of David king of Israel, and according to the writing of Solomon his son. %%% Era mweteeketeeke ng'ennyumba za bakitammwe bwe ziri mu mpalo zammwe, ng'ekiwandiike bwe kiri ekya Dawudi kabaka wa Isiraeri n'ekiwandiike kya Sulemaani mutabani we. 14C2H035.005 And stand in the holy place according to the divisions of the families of the fathers of your brethren the people, and after the division of the families of the Levites. %%% Era muyimirire mu kifo ekitukuvu ng'ennyumba za bakitaabwe eza baganda bammwe abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, era wabeewo eri buli muntu omugabo ogw'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abaleevi. 14C2H035.006 So kill the passover, and sanctify yourselves, and prepare your brethren, that they may do according to the word of the LORD by the hand of Moses. %%% Era mutte Okuyitako mwetukuze muteekereteekere baganda bammwe okukola ng'ekigambo kya Mukama bwe kiri mu mukono gwa Musa. 14C2H035.007 And Josiah gave to the people, of the flock, lambs and kids, all for the passover offerings, for all that were present, to the number of thirty thousand, and three thousand bullocks: these were of the king's substance. %%% Awo Yosiya n'awa abaana b'abantu ku mbuzi abaana b'endiga n'ab'embuzi, zonna ez'ebiweebwayo ez'Okuyitako eri bonna abaali eyo okuweza obukumi busatu, n'ente enkumi ssatu: ezo zaali za ku bintu bya kabaka. 14C2H035.008 And his princes gave willingly unto the people, to the priests, and to the Levites: Hilkiah and Zechariah and Jehiel, rulers of the house of God, gave unto the priests for the passover offerings two thousand and six hundred small cattle, and three hundred oxen. %%% N'abakulu be ne bawa abantu okuba ekiweebwayo ku bwabwe, eri bakabona n'Abaleevi. Kirukiya ne Zekkaliya ne Yekyeri, abaafuga ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi bbiri mu lukaaga n'ente ebikumi bisatu. 14C2H035.009 Conaniah also, and Shemaiah and Nethaneel, his brethren, and Hashabiah and Jeiel and Jozabad, chief of the Levites, gave unto the Levites for passover offerings five thousand small cattle, and five hundred oxen. %%% Era Konaniya ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, ne bawa Abaleevi olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi ttaano n'ente ebikumi bitaano. 14C2H035.010 So the service was prepared, and the priests stood in their place, and the Levites in their courses, according to the king's commandment. %%% Bwe kutyo okuweereza ne kuteekebwateekebwa, bakabona ne bayimirira mu kifo kyabwe, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali. 14C2H035.011 And they killed the passover, and the priests sprinkled the blood from their hands, and the Levites flayed them. %%% Ne batta Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gwabwe, Abaleevi ne bazibaaga. 14C2H035.012 And they removed the burnt offerings, that they might give according to the divisions of the families of the people, to offer unto the LORD, as it is written in the book of Moses. And so did they with the oxen. %%% Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ente. 14C2H035.013 And they roasted the passover with fire according to the ordinance: but the other holy offerings sod they in pots, and in caldrons, and in pans, and divided them speedily among all the people. %%% Ne bookya Okuyitako omuliro ng'ekiragiro bwe kyali: n'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu seffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu eri abaana b'abantu bonna. 14C2H035.014 And afterward they made ready for themselves, and for the priests: because the priests the sons of Aaron were busied in offering of burnt offerings and the fat until night; therefore the Levites prepared for themselves, and for the priests the sons of Aaron. %%% Awo oluvannyuma ne beeteekerateekera bokka ne bakabona; kubanga bakabona batabani ba Alooni tebaalina bbanga olw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka ne bakabona batabani ba Alooni. 14C2H035.015 And the singers the sons of Asaph were in their place, according to the commandment of David, and Asaph, and Heman, and Jeduthun the king's seer; and the porters waited at every gate; they might not depart from their service; for their brethren the Levites prepared for them. %%% N'abayimbi batabani ba Asafu baali mu kifo kyabwe, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka; n’abaggazi baali ku buli luggi: tebeetaaga kuva ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera. 14C2H035.016 So all the service of the LORD was prepared the same day, to keep the passover, and to offer burnt offerings upon the altar of the LORD, according to the commandment of king Josiah. %%% Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olwo okukwata Okuyitako n'okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali. 14C2H035.017 And the children of Israel that were present kept the passover at that time, and the feast of unleavened bread seven days. %%% Abaana ba Isiraeri abaali eyo ne bakwata Okuyitako mu biro ebyo n'embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa, ennaku musanvu. 14C2H035.018 And there was no passover like to that kept in Israel from the days of Samuel the prophet; neither did all the kings of Israel keep such a passover as Josiah kept, and the priests, and the Levites, and all Judah and Israel that were present, and the inhabitants of Jerusalem. %%% So tewabangawo Kuyitako okwafaanana okwo okwakwatibwa mu Isiraeri okuva ku biro bya Samwiri nnabbi; so tewabangawo ku bassekabaka ba Isiraeri eyakwata Okuyitako okufaanana okwo Yosiya kwe yakwata, ne bakabona n'Abaleevi ne Yuda yenna ne Isiraeri abaali eyo n’abo abaali mu Yerusaalemi. 14C2H035.019 In the eighteenth year of the reign of Josiah was this passover kept. %%% Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'okufuga kwa Yosiya mwe baakwatira Okuyitako okwo. 14C2H035.020 After all this, when Josiah had prepared the temple, Necho king of Egypt came up to fight against Charchemish by Euphrates: and Josiah went out against him. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya bwe yamala okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n'atabaala Kalukemisi mu kkubo lya Fulaati: Yosiya n'afuluma okulwana naye. 14C2H035.021 But he sent ambassadors to him, saying, What have I to do with thee, thou king of Judah? I come not against thee this day, but against the house wherewith I have war: for God commanded me to make haste: forbear thee from meddling with God, who is with me, that he destroy thee not. %%% Naye n'atuma ababaka eri ye ng'ayogera nti Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? sitabaala ggwe leero wabula ennyumba gye nnwana nayo; era Katonda andagidde okwanguwa: va ku Katonda ali nange aleme okukuzikiriza. 14C2H035.022 Nevertheless Josiah would not turn his face from him, but disguised himself, that he might fight with him, and hearkened not unto the words of Necho from the mouth of God, and came to fight in the valley of Megiddo. %%% Naye Yosiya n'ataganya kukyusa amaaso ge okumuvaako, naye ne yeefuula okulwana naye, n'atawulira bigambo bya Neeko ebyava eri akamwa ka Katonda, n'ajja okulwanira mu kivonvu Megiddo. 14C2H035.023 And the archers shot at king Josiah; and the king said to his servants, Have me away; for I am sore wounded. %%% Abalasi ne balasa kabaka Yosiya; kabaka n'aganba abaddu be nti Munziyeewo; kubanga nfumitiddwa nnyo. 14C2H035.024 His servants therefore took him out of that chariot, and put him in the second chariot that he had; and they brought him to Jerusalem, and he died, and was buried in one of the sepulchres of his fathers. And all Judah and Jerusalem mourned for Josiah. %%% Awo abaddu be ne bamuggya nu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye ery'okubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yenna ne Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya. 14C2H035.025 And Jeremiah lamented for Josiah: and all the singing men and the singing women spake of Josiah in their lamentations to this day, and made them an ordinance in Israel: and, behold, they are written in the lamentations. %%% Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya: n'abasajja bonna abayimbi n'abakazi abayimbi ne boogera ku Yosiya nu kukungubaga kwabwe ne leero; ne bakufuula etteeka mu Isiraeri: era, laba, kwawandiikibwa mu kukungubaga. 14C2H035.026 Now the rest of the acts of Josiah, and his goodness, according to that which was written in the law of the LORD, %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'ebyo bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mutama, 14C2H035.027 And his deeds, first and last, behold, they are written in the book of the kings of Israel and Judah. %%%h n'ebikolwa bye ebyasooka n'eby'amalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. 14C2H036.001 Then the people of the land took Jehoahaz the son of Josiah, and made him king in his father's stead in Jerusalem. %%% Awo abantu ab'omu nsi ne baddira Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe mu Yerusaalemi. 14C2H036.002 Jehoahaz was twenty and three years old when he began to reign, and he reigned three months in Jerusalem. %%% Yekoyakaazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri nu esatu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaaemi. 14C2H036.003 And the king of Egypt put him down at Jerusalem, and condemned the land in an hundred talents of silver and a talent of gold. %%% Kabaka w'e Misiri n'amugoba ku ntebe e Yerusaalemi, n'aweesa ensi talanta eza ffeeza kikumi ne talanta eya zaabu. 14C2H036.004 And the king of Egypt made Eliakim his brother king over Judah and Jerusalem, and turned his name to Jehoiakim. And Necho took Jehoahaz his brother, and carried him to Egypt. %%% Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'awaanyisa erinnya lye n'alifuula Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi muganda we n'amutwala e Misiri. 14C2H036.005 Jehoiakim was twenty and five years old when he began to reign, and he reigned eleven years in Jerusalem: and he did that which was evil in the sight of the LORD his God. %%% Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerumalemi: n'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi. 14C2H036.006 Against him came up Nebuchadnezzar king of Babylon, and bound him in fetters, to carry him to Babylon. %%% Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'amutabaala, n'amusiba mu masamba okumutwala e Babulooni. 14C2H036.007 Nebuchadnezzar also carried of the vessels of the house of the LORD to Babylon, and put them in his temple at Babylon. %%% Era Nebukadduneeza n'atwala ku bintu eby'omu myumba ya Mukama e Babulooni, n'abiteeka mu yeekaalu ye e Babulooni. 14C2H036.008 Now the rest of the acts of Jehoiakim, and his abominations which he did, and that which was found in him, behold, they are written in the book of the kings of Israel and Judah: and Jehoiachin his son reigned in his stead. %%% Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye gye yakolanga n'ebyo ebyalabika mu ye, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda: Yekoyakini mutabani we n'amuddira mu bigere. 14C2H036.009 Jehoiachin was eight years old when he began to reign, and he reigned three months and ten days in Jerusalem: and he did that which was evil in the sight of the LORD. %%% Yekoyakini yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu ko ennaku kkumi mu Yerusaalemi: n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. 14C2H036.010 And when the year was expired, king Nebuchadnezzar sent, and brought him to Babylon, with the goodly vessels of the house of the LORD, and made Zedekiah his brother king over Judah and Jerusalem. %%% Awo omwaka bwe gwadda kabaka Nebukadduneeza n'atuma n'amuleeta e Babulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'afuula Zeddekiya muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi. 14C2H036.011 Zedekiah was one and twenty years old when he began to reign, and reigned eleven years in Jerusalem. %%% Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: 14C2H036.012 And he did that which was evil in the sight of the LORD his God, and humbled not himself before Jeremiah the prophet speaking from the mouth of the LORD. %%% n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi; teyeetoowaza mu maaso ga Yeremiya nnabbi ng'ayogera ebiva mu kamwa ka Mukama. 14C2H036.013 And he also rebelled against king Nebuchadnezzar, who had made him swear by God: but he stiffened his neck, and hardened his heart from turning unto the LORD God of Israel. %%% Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda: naye n'akakanyaza ensingo ye n'akalubya omutima gwe obutakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri. 14C2H036.014 Moreover all the chief of the priests, and the people, transgressed very much after all the abominations of the heathen; and polluted the house of the LORD which he had hallowed in Jerusalem. %%% Era nate abakulu bonna aba bakabona n'abantu ne basobya nnyo okugobereranga emizizo gyonna egy'ab'amawanga; ne bagwagwawaza ennyumba ya Mukama gye yatukuza mu Yerusaalemi. 14C2H036.015 And the LORD God of their fathers sent to them by his messengers, rising up betimes, and sending; because he had compassion on his people, and on his dwelling place: %%% Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga mu babaka be, ng'agolokoka mu makya n'atuma; kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera: 14C2H036.016 But they mocked the messengers of God, and despised his words, and misused his prophets, until the wrath of the LORD arose against his people, till there was no remedy. %%% naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa obusungu bwa Mukama lwe bwabaawo eri abantu be, ne watabaawo kuwona. 14C2H036.017 Therefore he brought upon them the king of the Chaldees, who slew their young men with the sword in the house of their sanctuary, and had no compassion upon young man or maiden, old man, or him that stooped for age: he gave them all into his hand. %%% Kyeyava abaleetako kabaka w'Abakaludaaya, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ey'ekigwa kyabwe, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota: bonna yabagabula mu mukono gwe. 14C2H036.018 And all the vessels of the house of God, great and small, and the treasures of the house of the LORD, and the treasures of the king, and of his princes; all these he brought to Babylon. %%% N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebikulu n'ebito, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka n'eby'abakulu be; ebyo byonna n'abireeta e Babulooni. 14C2H036.019 And they burnt the house of God, and brake down the wall of Jerusalem, and burnt all the palaces thereof with fire, and destroyed all the goodly vessels thereof. %%% Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya omuliro amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi. 14C2H036.020 And them that had escaped from the sword carried he away to Babylon; where they were servants to him and his sons until the reign of the kingdom of Persia: %%% N'abo abaali bawonye ekitala n'abatwala e Babulooni; ne baba baddu eri ye n'eri batabani be okutuusa ku kufuga kw'obwakabaka bw'Obuperusi: 14C2H036.021 To fulfil the word of the LORD by the mouth of Jeremiah, until the land had enjoyed her sabbaths: for as long as she lay desolate she kept sabbath, to fulfil threescore and ten years. %%% okutuukiriza ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya okutuusa ensi lwe yasanyukira ssabbiiti zaayo: kubanga ennaku zonna ze yazikira yakwata ssabbiiti; okuweza emyaka nsanvu. 14C2H036.022 Now in the first year of Cyrus king of Persia, that the word of the LORD spoken by the mouth of Jeremiah might be accomplished, the LORD stirred up the spirit of Cyrus king of Persia, that he made a proclamation throughout all his kingdom, and put it also in writing, saying, %%% Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, n'okulangira n'alangira okubuna obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera nti 14C2H036.023 Thus saith Cyrus king of Persia, All the kingdoms of the earth hath the LORD God of heaven given me; and he hath charged me to build him an house in Jerusalem, which is in Judah. Who is there among you of all his people? The LORD his God be with him, and let him go up. %%% Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katanda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Mukama Katonda we abeere naye, ayambuke. 15EZR001.001 Now in the first year of Cyrus king of Persia, that the word of the LORD by the mouth of Jeremiah might be fulfilled, the LORD stirred up the spirit of Cyrus king of Persia, that he made a proclamation throughout all his kingdom, and put it also in writing, saying, %%% Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi n'okulangirira n'alangirira okubunya obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera nti 15EZR001.002 Thus saith Cyrus king of Persia, The LORD God of heaven hath given me all the kingdoms of the earth; and he hath charged me to build him an house at Jerusalem, which is in Judah. %%% Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. 15EZR001.003 Who is there among you of all his people? his God be with him, and let him go up to Jerusalem, which is in Judah, and build the house of the LORD God of Israel, (he is the God,) which is in Jerusalem. %%% Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, ayambuke mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, (ye Katonda,) ali mu Yerusaalemi. 15EZR001.004 And whosoever remaineth in any place where he sojourneth, let the men of his place help him with silver, and with gold, and with goods, and with beasts, beside the freewill offering for the house of God that is in Jerusalem. %%% Era buli asigadde mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamubeere ne ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi. 15EZR001.005 Then rose up the chief of the fathers of Judah and Benjamin, and the priests, and the Levites, with all them whose spirit God had raised, to go up to build the house of the LORD which is in Jerusalem. %%% Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Yuda ne Benyamini ne bagolokoka, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi. 15EZR001.006 And all they that were about them strengthened their hands with vessels of silver, with gold, with goods, and with beasts, and with precious things, beside all that was willingly offered. %%% Awo abo bonna ababeetoolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye baawaayo ku bwabwe. 15EZR001.007 Also Cyrus the king brought forth the vessels of the house of the LORD, which Nebuchadnezzar had brought forth out of Jerusalem, and had put them in the house of his gods; %%% Era Kuulo kabaka n'afulumya ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza bye yaggya mu Yerusaalemi n'abiteeka mu ssabo lya bakatonda be: 15EZR001.008 Even those did Cyrus king of Persia bring forth by the hand of Mithredath the treasurer, and numbered them unto Sheshbazzar, the prince of Judah. %%% ebyo Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya mu mukono gwa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda. 15EZR001.009 And this is the number of them: thirty chargers of gold, a thousand chargers of silver, nine and twenty knives, %%% Era guno gwe muwendo gwabyo: essowaani eza zaabu amakumi asatu, essowaani eza ffeeza lukumi, obwambe amakumi abiri mu mwenda; 15EZR001.010 Thirty basons of gold, silver basons of a second sort four hundred and ten, and other vessels a thousand. %%% ebibya ebya zaabu amakumi asatu, ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogw'okubiri ebikumi bina mu kkumi, n'ebintu ebirala lukumi. 15EZR001.011 All the vessels of gold and of silver were five thousand and four hundred. All these did Sheshbazzar bring up with them of the captivity that were brought up from Babylon unto Jerusalem. %%% Ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi. 15EZR002.001 Now these are the children of the province that went up out of the captivity, of those which had been carried away, whom Nebuchadnezzar the king of Babylon had carried away unto Babylon, and came again unto Jerusalem and Judah, every one unto his city; %%% Era bano be baana ab'omu ssaza, abaayambuka okuva mu busibe bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala e Babulooni, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe; 15EZR002.002 Which came with Zerubbabel: Jeshua, Nehemiah, Seraiah, Reelaiah, Mordecai, Bilshan, Mizpar, Bigvai, Rehum, Baanah. The number of the men of the people of Israel: %%% abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Seraya, Leeraya, Moluddekaayi, Birusani, Misupaali, Biguvayi, Lekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja b'abantu ba Isiraeri: 15EZR002.003 The children of Parosh, two thousand an hundred seventy and two. %%% abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. 15EZR002.004 The children of Shephatiah, three hundred seventy and two. %%% Abaana ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri. 15EZR002.005 The children of Arah, seven hundred seventy and five. %%% Abaana ba Ala, lusanvu mu nsanvu mu bataano. 15EZR002.006 The children of Pahathmoab, of the children of Jeshua and Joab, two thousand eight hundred and twelve. %%% Abaana ba Pakasumowaabu, ab'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi mu babiri. 15EZR002.007 The children of Elam, a thousand two hundred fifty and four. %%% Abaana ba Eramu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. 15EZR002.008 The children of Zattu, nine hundred forty and five. %%% Abaana ba Zattu, lwenda mu ana mu bataano. 15EZR002.009 The children of Zaccai, seven hundred and threescore. %%% Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga. 15EZR002.010 The children of Bani, six hundred forty and two. %%% Abaana ba Bani, lukaaga mu ana mu babiri. 15EZR002.011 The children of Bebai, six hundred twenty and three. %%% Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu. 15EZR002.012 The children of Azgad, a thousand two hundred twenty and two. %%% Abaana ba Azugaadi, lukumi mu ebikumi bibiri mu abiri mu babiri. 15EZR002.013 The children of Adonikam, six hundred sixty and six. %%% Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu mukaaga. 15EZR002.014 The children of Bigvai, two thousand fifty and six. %%% Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga. 15EZR002.015 The children of Adin, four hundred fifty and four. %%% Abaana ba Adini, ebikumi bina mu ataano mu bana. 15EZR002.016 The children of Ater of Hezekiah, ninety and eight. %%% Abaana ba Ateri, aba Keezeekiya, kyenda mu munaana. 15EZR002.017 The children of Bezai, three hundred twenty and three. %%% Abaana ba Bezayi, ebikumi bisatu mu abiri mu basatu. 15EZR002.018 The children of Jorah, an hundred and twelve. %%% Abaana ba Yola, kikumi mu kkumi mu babiri. 15EZR002.019 The children of Hashum, two hundred twenty and three. %%% Abaana ba Kasumu, ebikumi bibiri mu abiri mu basatu. 15EZR002.020 The children of Gibbar, ninety and five. %%% Abaana ba Gibbali, kyenda mu bataano. 15EZR002.021 The children of Bethlehem, an hundred twenty and three. %%% Abaana ba Besirekemu, kikumi mu abiri mu basatu. 15EZR002.022 The men of Netophah, fifty and six. %%% Abasajja b'e Netofa, amakumi ataano mu mukaaga. 15EZR002.023 The men of Anathoth, an hundred twenty and eight. %%% Abasajja b'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana. 15EZR002.024 The children of Azmaveth, forty and two. %%% Abaana ba Azumavesi, amakumi ana mu babiri. 15EZR002.025 The children of Kirjatharim, Chephirah, and Beeroth, seven hundred and forty and three. %%% Abaana ba Kiriaswalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu. 15EZR002.026 The children of Ramah and Gaba, six hundred twenty and one. %%% Abaana ba Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu. 15EZR002.027 The men of Michmas, an hundred twenty and two. %%% Abasajja b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri. 15EZR002.028 The men of Bethel and Ai, two hundred twenty and three. %%% Abasajja b'e Beseri ne Ayi, ebikumi bibiri mu abiri mu basatu. 15EZR002.029 The children of Nebo, fifty and two. %%% Abaana ba Nebo, amakumi ataano mu babiri. 15EZR002.030 The children of Magbish, an hundred fifty and six. %%% Abaana ba Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga. 15EZR002.031 The children of the other Elam, a thousand two hundred fifty and four. %%% Abaana ba Eramu omulala, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. 15EZR002.032 The children of Harim, three hundred and twenty. %%% Abaana ba Kalimu, ebikumi bisatu mu abiri. 15EZR002.033 The children of Lod, Hadid, and Ono, seven hundred twenty and five. %%% Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano. 15EZR002.034 The children of Jericho, three hundred forty and five. %%% Abaana b'e Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano. 15EZR002.035 The children of Senaah, three thousand and six hundred and thirty. %%% Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu. 15EZR002.036 The priests: the children of Jedaiah, of the house of Jeshua, nine hundred seventy and three. %%% Bakabona: abaana ba Yedaya, ab'omu nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu. 15EZR002.037 The children of Immer, a thousand fifty and two. %%% Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri. 15EZR002.038 The children of Pashur, a thousand two hundred forty and seven. %%% Abaana ba Pasukuli, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu. 15EZR002.039 The children of Harim, a thousand and seventeen. %%% Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi mu musanvu. 15EZR002.040 The Levites: the children of Jeshua and Kadmiel, of the children of Hodaviah, seventy and four. %%% Abaleevi: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, ab'oku baana ba Kodaviya, nsanvu mu bana. 15EZR002.041 The singers: the children of Asaph, an hundred twenty and eight. %%% Abayimbi: abaana ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana. 15EZR002.042 The children of the porters: the children of Shallum, the children of Ater, the children of Talmon, the children of Akkub, the children of Hatita, the children of Shobai, in all an hundred thirty and nine. %%% Abaana b'abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda. 15EZR002.043 The Nethinims: the children of Ziha, the children of Hasupha, the children of Tabbaoth, %%% Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi: 15EZR002.044 The children of Keros, the children of Siaha, the children of Padon, %%% abaana ba Kerosi, abaana ba Siyaka, abaana ba Padoni: 15EZR002.045 The children of Lebanah, the children of Hagabah, the children of Akkub, %%% abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Akkabu; 15EZR002.046 The children of Hagab, the children of Shalmai, the children of Hanan, %%% abaana ba Kagabu, abaana ba Samulaayi, abaana ba Kanani; 15EZR002.047 The children of Giddel, the children of Gahar, the children of Reaiah, %%% abaana ba Gidderi, abaana ba Gakali,abaana ba Leyaya; 15EZR002.048 The children of Rezin, the children of Nekoda, the children of Gazzam, %%% abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, abaana ba Gazzamu; 15EZR002.049 The children of Uzza, the children of Paseah, the children of Besai, %%% abaana ba Uzza, abaana ba Paseya, abaana ba Besayi; 15EZR002.050 The children of Asnah, the children of Mehunim, the children of Nephusim, %%% abaana ba Asuna, abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefisimu; 15EZR002.051 The children of Bakbuk, the children of Hakupha, the children of Harhur, %%% abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli; 15EZR002.052 The children of Bazluth, the children of Mehida, the children of Harsha, %%% abaana ba Bazulusi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa 15EZR002.053 The children of Barkos, the children of Sisera, the children of Thamah, %%% abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema; 15EZR002.054 The children of Neziah, the children of Hatipha. %%% abaana ba Neziya, abaana ba Katifa. 15EZR002.055 The children of Solomon's servants: the children of Sotai, the children of Sophereth, the children of Peruda, %%% Abaana b'abaddu ba Sulemaani: abaana ba Sotayi, abaana ba Kassoferesi, abaana ba Peruda; 15EZR002.056 The children of Jaalah, the children of Darkon, the children of Giddel, %%% abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi; 15EZR002.057 The children of Shephatiah, the children of Hattil, the children of Pochereth of Zebaim, the children of Ami. %%% abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Ami. 15EZR002.058 All the Nethinims, and the children of Solomon's servants, were three hundred ninety and two. %%% Abanesinimu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri. 15EZR002.059 And these were they which went up from Telmelah, Telharsa, Cherub, Addan, and Immer: but they could not shew their father's house, and their seed, whether they were of Israel: %%% Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe n'okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: 15EZR002.060 The children of Delaiah, the children of Tobiah, the children of Nekoda, six hundred fifty and two. %%% abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ataano mu babiri. 15EZR002.061 And of the children of the priests: the children of Habaiah, the children of Koz, the children of Barzillai; which took a wife of the daughters of Barzillai the Gileadite, and was called after their name: %%% Ne ku baana ba bakabona: abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi eyawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'erinnya lyabwe bwe lyali. 15EZR002.062 These sought their register among those that were reckoned by genealogy, but they were not found: therefore were they, as polluted, put from the priesthood. %%% Abo ne banoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne batalabika: kyebaava bababoola ne babagoba mu bwakabona. 15EZR002.063 And the Tirshatha said unto them, that they should not eat of the most holy things, till there stood up a priest with Urim and with Thummim. %%% Tirusaasa n'abagamba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa lwe walibaawo kabona alina Ulimu ne Sumimu. 15EZR002.064 The whole congregation together was forty and two thousand three hundred and threescore, %%% Ekibiina kyonna okugatta kyali obukumi buna mu enkumi bbiri mu ebikumi bisatu mu nkaaga, 15EZR002.065 Beside their servants and their maids, of whom there were seven thousand three hundred thirty and seven: and there were among them two hundred singing men and singing women. %%% obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe kasanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri. 15EZR002.066 Their horses were seven hundred thirty and six; their mules, two hundred forty and five; %%% Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe ebikumi bibiri mu ana mu ttaano; 15EZR002.067 Their camels, four hundred thirty and five; their asses, six thousand seven hundred and twenty. %%% eŋŋamira zaabwe ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri. 15EZR002.068 And some of the chief of the fathers, when they came to the house of the LORD which is at Jerusalem, offered freely for the house of God to set it up in his place: %%% Awo abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe bwe bajja mu nnyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi ne bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda okugisimba mu kifo kyayo: 15EZR002.069 They gave after their ability unto the treasure of the work threescore and one thousand drams of gold, and five thousand pound of silver, and one hundred priests' garments. %%% ne bawa ng'obuyinza bwabwe bwe bwali mu ggwanika ery'omulimu daliki obukumi mukaaga mu lukumi eza zaabu, ne laateri eza ffeeza enkumi ttaano, n'ebyambalo bya bakabona kikumi. 15EZR002.070 So the priests, and the Levites, and some of the people, and the singers, and the porters, and the Nethinims, dwelt in their cities, and all Israel in their cities. %%% Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abayimbi n'abaggazi n'Abanesinimu ne babeeranga mu bibuga byabwe ne Isiraeri yenna mu bibuga byabwe. 15EZR003.001 And when the seventh month was come, and the children of Israel were in the cities, the people gathered themselves together as one man to Jerusalem. %%% Awo omwezi ogw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga, abantu ne bakugnaanira e Yerusaalemi ng'omuntu omu. 15EZR003.002 Then stood up Jeshua the son of Jozadak, and his brethren the priests, and Zerubbabel the son of Shealtiel, and his brethren, and builded the altar of the God of Israel, to offer burnt offerings thereon, as it is written in the law of Moses the man of God. %%% Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki n'ayimirira, ne baganda be bakabona, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne baganda be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. 15EZR003.003 And they set the altar upon his bases; for fear was upon them because of the people of those countries: and they offered burnt offerings thereon unto the LORD, even burnt offerings morning and evening. %%% Ne basimba ekyoto ku ntebe yaakyo; kubanga entiisa yabaliko olw'abantu ab'omu nsi: ne baweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi. 15EZR003.004 They kept also the feast of tabernacles, as it is written, and offered the daily burnt offerings by number, according to the custom, as the duty of every day required; %%% Ne bakwatanga embaga ey'ensiisira nga bwe kyawandiikibwa ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwali, ng'ekiragiro bwe kyali, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali; 15EZR003.005 And afterward offered the continual burnt offering, both of the new moons, and of all the set feasts of the LORD that were consecrated, and of every one that willingly offered a freewill offering unto the LORD. %%% n'oluvannyuma ekiweebwayo ekyokebwa eky'emirembe gyonna, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga zonna eza Mukama ezaalagirwa, n'ebya buli muntu eyawaayo ng'ayagadde ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama. 15EZR003.006 From the first day of the seventh month began they to offer burnt offerings unto the LORD. But the foundation of the temple of the LORD was not yet laid. %%% Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu kwe baasookera okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama: naye emisingi gya yeekaalu ya Mukama nga teginnaba kussibwawo. 15EZR003.007 They gave money also unto the masons, and to the carpenters; and meat, and drink, and oil, unto them of Zidon, and to them of Tyre, to bring cedar trees from Lebanon to the sea of Joppa, according to the grant that they had of Cyrus king of Persia. %%% Era ne bawa abazimbi n'ababazzi effeeza; n'ebyokulya n'ebyokunywa n'amafuta ne babiwa w'e Sidoni n’ab'e Ttuulo, okuggya emivule ku Lebanooni okugireta ku nnyanja e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagira. 15EZR003.008 Now in the second year of their coming unto the house of God at Jerusalem, in the second month, began Zerubbabel the son of Shealtiel, and Jeshua the son of Jozadak, and the remnant of their brethren the priests and the Levites, and all they that were come out of the captivity unto Jerusalem; and appointed the Levites, from twenty years old and upward, to set forward the work of the house of the LORD. %%% Awo mu mwaka ogw'okubiri kasookedde bajja eri ennyumba ya Katonda e Yerusaalemi, mu mwezi ogw'okubiri, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri mwe yasookera ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe abalala bakabona n'Abaleevi n'abo abaali bavudde mu busibe obwo ne bajja e Yerusaalemi; ne balagira Abaleevi abaakamaze emyaka amakumi asatu n'okukirawo okulabirira omulimu ogw'omu nnyumba ya Mukama. 15EZR003.009 Then stood Jeshua with his sons and his brethren, Kadmiel and his sons, the sons of Judah, together, to set forward the workmen in the house of God: the sons of Henadad, with their sons and their brethren the Levites. %%% Awo Yesuwa n'ayimirira ne batabani be ne baganda be, Kadumyeri ne batabani be, batabani ba Yuda, wamu okulabirira abakozi mu nnyumba ya Katonda: batabani ba Kenadadi ne batabani baabwe ne baganda baabwe Abaleevi. 15EZR003.010 And when the builders laid the foundation of the temple of the LORD, they set the priests in their apparel with trumpets, and the Levites the sons of Asaph with cymbals, to praise the LORD, after the ordinance of David king of Israel. %%% Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya yeekaalu ya Mukama, ne bateeka bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakondeere, n'Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka. 15EZR003.011 And they sang together by course in praising and giving thanks unto the LORD; because he is good, for his mercy endureth for ever toward Israel. And all the people shouted with a great shout, when they praised the LORD, because the foundation of the house of the LORD was laid. %%% Ne bayimbiragana nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi, n'okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna eri Isiraeri. Abantu bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene bwe baatendereza Mukama, kubanga emisingi gy'ennyumba ya Mukama gissibbwawo. 15EZR003.012 But many of the priests and Levites and chief of the fathers, who were ancient men, that had seen the first house, when the foundation of this house was laid before their eyes, wept with a loud voice; and many shouted aloud for joy: %%% Naye bangi ku bakabona n'Abaleevi n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abakadde abaalaba ennyumba eyasooka, emisingi gy'ennyumba eno bwe gyassibwayo mu maaso gaabwe, ne bakaaba amaziga n'eddoboozi ddene; bangi ne boogerera waggulu n'essanyu: 15EZR003.013 So that the people could not discern the noise of the shout of joy from the noise of the weeping of the people: for the people shouted with a loud shout, and the noise was heard afar off. %%% abantu n'okuyinza ne batayinza kwawula ddoboozi lya kwogerera waggulu n'essanyu n'eddoboozi ery'okukaaba kw'abantu: kubanga abantu baayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, oluyoogaano ne luwulirirwa wala. 15EZR004.001 Now when the adversaries of Judah and Benjamin heard that the children of the captivity builded the temple unto the LORD God of Israel; %%% Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng'abaana b'obusibe bazimbira yeekaalu Mukama Katonda wa Isiraeri; 15EZR004.002 Then they came to Zerubbabel, and to the chief of the fathers, and said unto them, Let us build with you: for we seek your God, as ye do; and we do sacrifice unto him since the days of Esarhaddon king of Assur, which brought us up hither. %%% ne balyoka basemberera Zerubbaberi, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne babagamba nti Ka tuzimbire wamu nammwe: kubanga tunoonya Katonda wammwe era nga nammwe; era tuwaayo ssaddaaka eri ye okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatulinnyisa wano. 15EZR004.003 But Zerubbabel, and Jeshua, and the rest of the chief of the fathers of Israel, said unto them, Ye have nothing to do with us to build an house unto our God; but we ourselves together will build unto the LORD God of Israel, as king Cyrus the king of Persia hath commanded us. %%% Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti Temulina kigambo naffe okuzimba ennyumba eri Katonda waffe; naye ffe fekka wamu tulizimba eri Mukama Katonda wa Isiraeri nga kabaka Kuulo Kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira. 15EZR004.004 Then the people of the land weakened the hands of the people of Judah, and troubled them in building, %%% Awo abantu ab'omu nsi ne banafuya emikono gy'abantu ba Yuda ne babateganya mu kuzimba, 15EZR004.005 And hired counsellors against them, to frustrate their purpose, all the days of Cyrus king of Persia, even until the reign of Darius king of Persia. %%% ne bagulirira ab'okusala amagezi okubaziyiza okutta okuteesa kwabwe emirembe gyonna egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusa Daliyo kabaka w'e Buperusi lwe yalya obwakabaka. 15EZR004.006 And in the reign of Ahasuerus, in the beginning of his reign, wrote they unto him an accusation against the inhabitants of Judah and Jerusalem. %%% Ne ku mirembe gya Akaswero nga kyajje alye obwakabaka ne bawandiika okuloopa abaali mu Yuda ne Yerusaalemi. 15EZR004.007 And in the days of Artaxerxes wrote Bishlam, Mithredath, Tabeel, and the rest of their companions, unto Artaxerxes king of Persia; and the writing of the letter was written in the Syrian tongue, and interpreted in the Syrian tongue. %%% Ku mirembe gya Alutagizerugizi Bisulamu n'awandiika ne Misuledasi ne Tabeeri ne banne abalala eri Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi: era ebbaluwa yawandiikirwa mu nnukuta ez'e Kisuuli, ne mu lulimi Olusuuli. 15EZR004.008 Rehum the chancellor and Shimshai the scribe wrote a letter against Jerusalem to Artaxerxes the king in this sort: %%% Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiika ebbaluwa eri Alutagizerugizi kabaka okuloopa Yerusaalemi bwe bati: 15EZR004.009 Then wrote Rehum the chancellor, and Shimshai the scribe, and the rest of their companions; the Dinaites, the Apharsathchites, the Tarpelites, the Apharsites, the Archevites, the Babylonians, the Susanchites, the Dehavites, and the Elamites, %%% awo Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala ne bawandiika; Abadinayi n'Abafalasasuki n'Abataluperi n'Abafalusi n'Abalukevi n'Abababulooni n'Abasusanuki n'Abadekayi n'Abaweramu, 15EZR004.010 And the rest of the nations whom the great and noble Asnapper brought over, and set in the cities of Samaria, and the rest that are on this side the river, and at such a time. %%% n’amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yasomosa n'ateeka mu kibuga ky'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, n'ebirala bwe bityo. 15EZR004.011 This is the copy of the letter that they sent unto him, even unto Artaxerxes the king; Thy servants the men on this side the river, and at such a time. %%% Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka; Abaddu bo abasajja abali emitala w'omugga n'ebirala bwe bityo. 15EZR004.012 Be it known unto the king, that the Jews which came up from thee to us are come unto Jerusalem, building the rebellious and the bad city, and have set up the walls thereof, and joined the foundations. %%% Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli ne bambuka batuuse gye tuli e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi. 15EZR004.013 Be it known now unto the king, that, if this city be builded, and the walls set up again, then will they not pay toll, tribute, and custom, and so thou shalt endamage the revenue of the kings. %%% Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale enkomerero bakabaka balifiirwa. 15EZR004.014 Now because we have maintenance from the king's palace, and it was not meet for us to see the king's dishonour, therefore have we sent and certified the king; %%% Kale kubanga tulya omunnyo ogw'omu lubiri, so tetugwana kulaba kabaka ng'anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tutegeeza kabaka; 15EZR004.015 That search may be made in the book of the records of thy fathers: so shalt thou find in the book of the records, and know that this city is a rebellious city, and hurtful unto kings and provinces, and that they have moved sedition within the same of old time: for which cause was this city destroyed. %%% banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo: bw'otyo bw'olisanga mu kitabo eky'okujjukiza, n'otegeera ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era nga kyonoona bakabaka n'amasaza era nga baajeemyanga abantu mu ekyo mu biro eby'edda: ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa. 15EZR004.016 We certify the king that, if this city be builded again, and the walls thereof set up, by this means thou shalt have no portion on this side the river. %%% Tutegeeza kabaka, ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga olw'ekyo toliba na kitundu emitala w'omugga. 15EZR004.017 Then sent the king an answer unto Rehum the chancellor, and to Shimshai the scribe, and to the rest of their companions that dwell in Samaria, and unto the rest beyond the river, Peace, and at such a time. %%% Awo kabaka n'atumira Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga n'addamu nti Emirembe n'ebirala bwe bityo. 15EZR004.018 The letter which ye sent unto us hath been plainly read before me. %%% Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera. 15EZR004.019 And I commanded, and search hath been made, and it is found that this city of old time hath made insurrection against kings, and that rebellion and sedition have been made therein. %%% Ne nteeka etteeka, ne banoonya, era balabye ng'ekibuga ekyo okuva mu biro eby'edda kyasaliranga bakabaka enkwe, n'obujeemu n'ekyejo byakolerwanga omwo. 15EZR004.020 There have been mighty kings also over Jerusalem, which have ruled over all countries beyond the river; and toll, tribute, and custom, was paid unto them. %%% Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga: era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza. 15EZR004.021 Give ye now commandment to cause these men to cease, and that this city be not builded, until another commandment shall be given from me. %%% Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo, ekibuga ekyo kireme okuzimbibwa okutuusa lwe nditeeka etteeka eddala. 15EZR004.022 Take heed now that ye fail not to do this: why should damage grow to the hurt of the kings? %%% Era mwekuume muleme okutenguwa mu kino: akabi kandikulidde ki bakabaka ne bafiirwa? 15EZR004.023 Now when the copy of king Artaxerxes' letter was read before Rehum, and Shimshai the scribe, and their companions, they went up in haste to Jerusalem unto the Jews, and made them to cease by force and power. %%% Awo ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa ya kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali. 15EZR004.024 Then ceased the work of the house of God which is at Jerusalem. So it ceased unto the second year of the reign of Darius king of Persia. %%% Awo omulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo; gwalekebwayo okutuusa omwaka ogw'okubiri ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka We Buperusi. 15EZR005.001 Then the prophets, Haggai the prophet, and Zechariah the son of Iddo, prophesied unto the Jews that were in Judah and Jerusalem in the name of the God of Israel, even unto them. %%% Awo bannabbi, Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo, ne balagulira Abayudaaya abaali mu Yuda ne Yerusaalemi; mu linnya lya Katonda wa Isiraeri mwe baabalagulirira. 15EZR005.002 Then rose up Zerubbabel the son of Shealtiel, and Jeshua the son of Jozadak, and began to build the house of God which is at Jerusalem: and with them were the prophets of God helping them. %%% Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n'agolokoka ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne batanula okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: era wamu nabo waaliwo bannabbi ba Katonda nga babayamba. 15EZR005.003 At the same time came to them Tatnai, governor on this side the river, and Shetharboznai, and their companions, and said thus unto them, Who hath commanded you to build this house, and to make up this wall? %%% Mu biro ebyo ne wajja gye bali Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne babagamba bwe batyo nti Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono? 15EZR005.004 Then said we unto them after this manner, What are the names of the men that make this building? %%% Awo ne tubagamba bwe tutyo nti Abasajja abakola ennyumba eno amannya gaabwe b'ani? 15EZR005.005 But the eye of their God was upon the elders of the Jews, that they could not cause them to cease, till the matter came to Darius: and then they returned answer by letter concerning this matter. %%% Naye amaaso ga Katonda waabwe gaali ku bakadde b'Abayudaaya, ne batabalekesaayo okutuusa ekigambo lwe kirituuka eri Daliyo eby'okuddamu ne bizzibwa mu bbaluwa olw'ekigambo ekyo. 15EZR005.006 The copy of the letter that Tatnai, governor on this side the river, and Shetharboznai, and his companions the Apharsachites, which were on this side the river, sent unto Darius the king: %%% Ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne banne, Abafalusaki, abaali emitala w'omugga, gye baaweereza Daliyo kabaka: 15EZR005.007 They sent a letter unto him, wherein was written thus; Unto Darius the king, all peace. %%% ne bamuweereza ebbaluwa eyawandiikibwa eti nti Eri Daliyo kabaka mirembe myereere. 15EZR005.008 Be it known unto the king, that we went into the province of Judea, to the house of the great God, which is builded with great stones, and timber is laid in the walls, and this work goeth fast on, and prospereth in their hands. %%% Kabaka ategeere nga twajja mu ssaza lya Yuda mu nnyumba ya Katonda omukulu ezimbibwa n'amayinja amanene, era emiti giteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gugenda nga gweyongera n'okunyiikira mu mikono gyabwe. 15EZR005.009 Then asked we those elders, and said unto them thus, Who commanded you to build this house, and to make up these walls? %%% Awo ne tubuuza abakadde abo ne tubagamba bwe tutyo nti Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono? 15EZR005.010 We asked their names also, to certify thee, that we might write the names of the men that were the chief of them. %%% Era ne tubabuuza n'amannya gaabwe; okukutegeeza, tuwandiike amannya g'abasajja ababakulira. 15EZR005.011 And thus they returned us answer, saying, We are the servants of the God of heaven and earth, and build the house that was builded these many years ago, which a great king of Israel builded and set up. %%% Kale ne baddamu bwe batyo nti Tuli baddu ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba ennyumba eyazimbibwa edda emyaka giri emingi kabaka wa Isiraeri omukulu gye Yazimba n'amala. 15EZR005.012 But after that our fathers had provoked the God of heaven unto wrath, he gave them into the hand of Nebuchadnezzar the king of Babylon, the Chaldean, who destroyed this house, and carried the people away into Babylon. %%% Naye oluvannyuma bajjajjaffe bwe baali basunguwazizza Katonda w'eggulu, n'abagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni Omukaludaaya, eyazikiriza ennyumba eno n'atwala abantu e Babulooni. 15EZR005.013 But in the first year of Cyrus the king of Babylon the same king Cyrus made a decree to build this house of God. %%% Naye mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Babulooni, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka okuzimba ennyumba eno eya Katonda. 15EZR005.014 And the vessels also of gold and silver of the house of God, which Nebuchadnezzar took out of the temple that was in Jerusalem, and brought them into the temple of Babylon, those did Cyrus the king take out of the temple of Babylon, and they were delivered unto one, whose name was Sheshbazzar, whom he had made governor; %%% Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n'abireeta mu yeekaalu ey'e Babulooni, ebyo Kuulo kabaka n’abiggya mu yeekaalu ey'e Babulooni, ne babiwa omuntu erinnya lye Sesubazzali gwe yali afudde owessaza; 15EZR005.015 And said unto him, Take these vessels, go, carry them into the temple that is in Jerusalem, and let the house of God be builded in his place. %%% n'amugamba nti Twala ebintu bino, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, ennyumba ya Katonda ezimbibwe mu kifo kyayo. 15EZR005.016 Then came the same Sheshbazzar, and laid the foundation of the house of God which is in Jerusalem: and since that time even until now hath it been in building, and yet it is not finished. %%% Awo Sesubazzali oyo n'ajja n'assaawo emisingi gy'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: kale okuva ku biro ebyo na buli kati nga bagizimba, era naye tennaba kuggwa. 15EZR005.017 Now therefore, if it seem good to the king, let there be search made in the king's treasure house, which is there at Babylon, whether it be so, that a decree was made of Cyrus the king to build this house of God at Jerusalem, and let the king send his pleasure to us concerning this matter. %%% Kale nno oba nga kabaka asiima banoonye mu ggwanika lya kabaka eriri eyo e Babulooni, oba nga bwe biri bwe bityo, ng'etteeka lyateekebwa erya Kuulo kabaka okuzimba ennyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, kabaka atutumire atutegeeze bw'anaasiima mu kigambo kino. 15EZR006.001 Then Darius the king made a decree, and search was made in the house of the rolls, where the treasures were laid up in Babylon. %%% Awo Daliyo kabaka n'alyoka ateeka etteeka, ne banoonya nu nnyumba eterekerwamu ebitabo by'obugagga gye byaterekerwa mu Babulooni. 15EZR006.002 And there was found at Achmetha, in the palace that is in the province of the Medes, a roll, and therein was a record thus written: %%% Ne balabira e Yakunesa mu lubiri oluli mu ssaza ery'Obumeedi omuzingo, ogwawandiikibwamu bwe gutyo okuba ekijjukizo nti 15EZR006.003 In the first year of Cyrus the king the same Cyrus the king made a decree concerning the house of God at Jerusalem, Let the house be builded, the place where they offered sacrifices, and let the foundations thereof be strongly laid; the height thereof threescore cubits, and the breadth thereof threescore cubits; %%% Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka olw'ennyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi, ennyumba ezimbibwe, ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, n'emisingi gyayo gissibwewo ginywezebwe; obugulumivu bwayo emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono nkaaga; 15EZR006.004 With three rows of great stones, and a row of new timber: and let the expenses be given out of the king's house: %%% n'embu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu olw'emiti emiggya: era ebintu bye balifiirwa biggibwe mu nnyumba ya kabaka: 15EZR006.005 And also let the golden and silver vessels of the house of God, which Nebuchadnezzar took forth out of the temple which is at Jerusalem, and brought unto Babylon, be restored, and brought again unto the temple which is at Jerusalem, every one to his place, and place them in the house of God. %%% era nate ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, n'abireeta e Babulooni, bizzibweyo bireetebwe nate mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, kinnakimu mu kifo kyakyo, era olibiteeka mu nnyumba ya Katonda. 15EZR006.006 Now therefore, Tatnai, governor beyond the river, Shetharboznai, and your companions the Apharsachites, which are beyond the river, be ye far from thence: %%% Kale nno, Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannammwe Abafalusaki abali emitala w'omugga, mwesambe wala: 15EZR006.007 Let the work of this house of God alone; let the governor of the Jews and the elders of the Jews build this house of God in his place. %%% muleke omulimu ogw'omu nnyumba eno eya Katonda; owessaza ow'omu Bayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe ennyumba eno eya Katonda mu kifo kyayo. 15EZR006.008 Moreover I make a decree what ye shall do to the elders of these Jews for the building of this house of God: that of the king's goods, even of the tribute beyond the river, forthwith expenses be given unto these men, that they be not hindered. %%% Era nate nteeka etteeka kye muba mukola abakadde bano ab'Abayudaaya olw'okuzimba ennyumba ya Katonda eno: baggye ku bintu bya kabaka ku musolo ogw'emitala w'omugga bawe abasajja bano bye balifiirwa n'okunyiikira kwonna, baleme okuziyizibwa. 15EZR006.009 And that which they have need of, both young bullocks, and rams, and lambs, for the burnt offerings of the God of heaven, wheat, salt, wine, and oil, according to the appointment of the priests which are at Jerusalem, let it be given them day by day without fail: %%% N'ebyo bye baneetaaganga, ente ento era n'endiga ennume n'abaana b'endiga okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w'eggulu, eŋŋaano, omunnyo, omwenge, n'amafuta, ng'ekigambo bwe kinaabanga ekya bakabona abali e Yerusaalemi, baweebwenga buli lunaku obutayosa: 15EZR006.010 That they may offer sacrifices of sweet savours unto the God of heaven, and pray for the life of the king, and of his sons. %%% bawengayo ssaddaaka ez'evvumbe eddungi eri Katonda w'eggulu, era basabire obulamu bwa kabaka n'obwa batabani be. 15EZR006.011 Also I have made a decree, that whosoever shall alter this word, let timber be pulled down from his house, and being set up, let him be hanged thereon; and let his house be made a dunghill for this. %%% Era nteese etteeka buli anaawaanyisanga ekigambo kino, omuti guggibwenga mu nnyumba ye, era asitulibwenga asibibwenga okwo; n'ennyumba ye efuulibwenga olubungo olw'ekyo: 15EZR006.012 And the God that hath caused his name to dwell there destroy all kings and people, that shall put to their hand to alter and to destroy this house of God which is at Jerusalem. I Darius have made a decree; let it be done with speed. %%% era Katonda eyabeesaayo erinnya lye asuule bakabaka bonna n'amawanga abanaagololanga emikono gyabwe okuwaanyisa ekyo, okuzikiriza ennyumba eno eya Katonda eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteese etteeka; likolebwe n'okunyiikira kwonna. 15EZR006.013 Then Tatnai, governor on this side the river, Shetharboznai, and their companions, according to that which Darius the king had sent, so they did speedily. %%% Awo Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannaabwe, kubanga Daliyo antumye, ne bakola bwe batyo n'okunyiikira kwonna. 15EZR006.014 And the elders of the Jews builded, and they prospered through the prophesying of Haggai the prophet and Zechariah the son of Iddo. And they builded, and finished it, according to the commandment of the God of Israel, and according to the commandment of Cyrus, and Darius, and Artaxerxes king of Persia. %%% Awo abakadde b'Abayudaaya ne bazimba ne balaba omukisa olw'okulagula kwa Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo. Ne bazimba ne bagimala ng'ekiragiro bwe kyali ekya Katonda wa Isiraeri, era n'ekiragiro kya Kuulo ne Daliyo ne Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi. 15EZR006.015 And this house was finished on the third day of the month Adar, which was in the sixth year of the reign of Darius the king. %%% Awo ennyumba eno n'emalirwa ku lunaku olw'okusatu olw'omwezi Adali, ogw'omu mwaka ogw'omukaaga ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka. 15EZR006.016 And the children of Israel, the priests, and the Levites, and the rest of the children of the captivity, kept the dedication of this house of God with joy, %%% Awo abaana ba Isiraeri, bakabona n'Abaleevi, n'abaana b'obusibe abalala, ne bakwata n'essanyu embaga ey'okutukuza ennyumba eno eya Katonda. 15EZR006.017 And offered at the dedication of this house of God an hundred bullocks, two hundred rams, four hundred lambs; and for a sin offering for all Israel, twelve he goats, according to the number of the tribes of Israel. %%% Ne baweerayo mu kutukuza ennyumba eno eya Katonda ente kikumi, endiga ennume ebikumi bibiri, abaana b'endiga ebikumi bina; n'okuba ekiweebwayo olw'ekibi ekya Isiraeri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri ng'omuwendo bwe gwali ogw'ebika bya Isiraeri. 15EZR006.018 And they set the priests in their divisions, and the Levites in their courses, for the service of God, which is at Jerusalem; as it is written in the book of Moses. %%% Ne bateeka bakabona nga bwe baagerekwa; n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, olw'okuweereza Katonda ali e Yerusaalemi; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. 15EZR006.019 And the children of the captivity kept the passover upon the fourteenth day of the first month. %%% Awo abaana b'obusibe ne bakwatira Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye. 15EZR006.020 For the priests and the Levites were purified together, all of them were pure, and killed the passover for all the children of the captivity, and for their brethren the priests, and for themselves. %%% Kubanga baikabona n'Abaleevi baali beerongoosezza wamu; bonna baali balongoofu: ne battira Okuyitako abaana bonna ab'obusibe ne baganda baabwe bakaboa nabo bennyini. 15EZR006.021 And the children of Israel, which were come again out of captivity, and all such as had separated themselves unto them from the filthiness of the heathen of the land, to seek the LORD God of Israel, did eat, %%% Awo abaana ba Isiraeri abaali bakomyewo okuva mu busibe n'abo bonna abaali beeyawudde gye bali okuva mu bugwagwa bwa bannaggwanga ab'omu nsi okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri, 15EZR006.022 And kept the feast of unleavened bread seven days with joy: for the LORD had made them joyful, and turned the heart of the king of Assyria unto them, to strengthen their hands in the work of the house of God, the God of Israel. %%% ne balya ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa n'essanyu ennaku kkumi na musanvu: kubanga Mukama yali abasanyusizza, era yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Bwasuli gye bali, okunyweza emikono gyabwe mu mulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda, Katonda wa Isiraeri.# erinnya lye asuule bakabaka bonna n'amawanga abanaagololanga emikono gyabwe okuwaanyisa ekyo, okuzikiriza ennyumba eno eya Katonda eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteese etteeka; likolebwe n'okunyiikira kwonna. 15EZR007.001 Now after these things, in the reign of Artaxerxes king of Persia, Ezra the son of Seraiah, the son of Azariah, the son of Hilkiah, %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi Ezera mutabani wa Seraya mutabani wa Azaliya mutabani wa Kirukiya 15EZR007.002 The son of Shallum, the son of Zadok, the son of Ahitub, %%% mutabani wa Sallumu mutabani wa Zadoki mutabani wa Akitubu 15EZR007.003 The son of Amariah, the son of Azariah, the son of Meraioth, %%% mutabani wa Amaliya mutabani wa Azaliya mutabani wa Merayoosi 15EZR007.004 The son of Zerahiah, the son of Uzzi, the son of Bukki, %%% mutabani wa Zerakiya mutabani wa Uzzi mutabani wa Bukki 15EZR007.005 The son of Abishua, the son of Phinehas, the son of Eleazar, the son of Aaron the chief priest: %%% mutabani wa Abisuwa mutabani wa Finekaasi mutabani wa Ereyazaali mutabani wa Alooni kabona asinga obukulu: 15EZR007.006 This Ezra went up from Babylon; and he was a ready scribe in the law of Moses, which the LORD God of Israel had given: and the king granted him all his request, according to the hand of the LORD his God upon him. %%% Ezera oyo n'ayambuka ng'ava e Babulooni; era yali muwandiisi mwangu mu mateeka ga Musa, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa; kabaka n'amuwa byonna bye yasaba, olw'omukono gwa Mukama Katonda we ogwali ku ye. 15EZR007.007 And there went up some of the children of Israel, and of the priests, and the Levites, and the singers, and the porters, and the Nethinims, unto Jerusalem, in the seventh year of Artaxerxes the king. %%% Awo abamu ku baana ba Isiraeri ne bambuka ne ku bakabona n'Abaleevi n'abayimbi n'abaggazi ne Banesinimu ne bajja e Yerusaalemi mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Alutagizerugizi kabaka. 15EZR007.008 And he came to Jerusalem in the fifth month, which was in the seventh year of the king. %%% N'ajja e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okutaano ogw'omu mwaka ogw'omusanvu ogwa kabaka. 15EZR007.009 For upon the first day of the first month began he to go up from Babylon, and on the first day of the fifth month came he to Jerusalem, according to the good hand of his God upon him. %%% Kubanga ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye kwe yasookera okwambuka okuva e Babulooni, ne ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okutaano kwe yatuukira e Yerusaalemi, olw'omukono omulungi ogwa Katonda we ogwali ku ye. 15EZR007.010 For Ezra had prepared his heart to seek the law of the LORD, and to do it, and to teach in Israel statutes and judgments. %%% Kubanga Ezera yali akakasizza omutima gwe okunoonya amateeka ga Mukama n'okugakolanga n'okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n'emisango. 15EZR007.011 Now this is the copy of the letter that the king Artaxerxes gave unto Ezra the priest, the scribe, even a scribe of the words of the commandments of the LORD, and of his statutes to Israel. %%% Era ebbaluwa eno yaggibwa mu bbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona, omuwandiisi, omuwandiisi w'ebigambo eby'ebiragiro bya Mukama era ow'amateeka eri Isiraeri. 15EZR007.012 Artaxerxes, king of kings, unto Ezra the priest, a scribe of the law of the God of heaven, perfect peace, and at such a time. %%% Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka awandiikidde Ezera kabona, omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu eyatuukirira n'ebirala bwe bityo. 15EZR007.013 I make a decree, that all they of the people of Israel, and of his priests and Levites, in my realm, which are minded of their own freewill to go up to Jerusalem, go with thee. %%% Nteeka etteeka bonna ab'oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe ddala okugenda e Yerusaalemi, bagende naawe. 15EZR007.014 Forasmuch as thou art sent of the king, and of his seven counsellors, to enquire concerning Judah and Jerusalem, according to the law of thy God which is in thine hand; %%% Kubanga otumiddwa kabaka n'abateesa naye omusanvu okubuuza ebigambo bya Yuda ne Yerusaalemi, ng'amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo; 15EZR007.015 And to carry the silver and gold, which the king and his counsellors have freely offered unto the God of Israel, whose habitation is in Jerusalem, %%% n'okutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, ekifo kye ky'abeeramu kiri mu Yerusaalemi, 15EZR007.016 And all the silver and gold that thou canst find in all the province of Babylon, with the freewill offering of the people, and of the priests, offering willingly for the house of their God which is in Jerusalem: %%% ne ffeeza yonna ne zaabu gy'olisanga mu ssaza lyonna ery'e Babulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, nga bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi; 15EZR007.017 That thou mayest buy speedily with this money bullocks, rams, lambs, with their meat offerings and their drink offerings, and offer them upon the altar of the house of your God which is in Jerusalem. %%% kyoliva onyiikira ennyo okugula ebintu bino ente, endiga ennume, abaana b'endiga, n'ebiweebwayo byako eby'obutta, n'ebiweebwayo byako ebyokunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi. 15EZR007.018 And whatsoever shall seem good to thee, and to thy brethren, to do with the rest of the silver and the gold, that do after the will of your God. %%% Era kyonna kyonna kye mulisiima okukola effeeza erifikkawo ne zaabu ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw'ayagala. 15EZR007.019 The vessels also that are given thee for the service of the house of thy God, those deliver thou before the God of Jerusalem. %%% N'ebintu by'oweebwa olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda wo obiwangayo mu maaso ga Katonda w'e Yerusaalemi. 15EZR007.020 And whatsoever more shall be needful for the house of thy God, which thou shalt have occasion to bestow, bestow it out of the king's treasure house. %%% Era byonna ennyumba ya Katonda wo by'eryetaaga okusukkirizaawo ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng'obiggya mu nnyumba y'eggwanika lya kabaka. 15EZR007.021 And I, even I Artaxerxes the king, do make a decree to all the treasurers which are beyond the river, that whatsoever Ezra the priest, the scribe of the law of the God of heaven, shall require of you, it be done speedily, %%% Nange, nze Alutagizerugizi kabaka, nteeka etteeka eri abawanika bonna abali emitala w'omugga, Ezera kabona omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu buli ky'alibasalira, kikolebwenga n'okunyiikira kwonna, 15EZR007.022 Unto an hundred talents of silver, and to an hundred measures of wheat, and to an hundred baths of wine, and to an hundred baths of oil, and salt without prescribing how much. %%% okutuusa talanta eza ffeeza kikumi, n'ebigero by'eŋŋaano kikumi, n'ebita by'omwenge kikumi, n'ebita by'amafuta kikumi, n'omunnyo obutagwogera bwe guba gwenkana. 15EZR007.023 Whatsoever is commanded by the God of heaven, let it be diligently done for the house of the God of heaven: for why should there be wrath against the realm of the king and his sons? %%% Buli ekinaalagirwanga Katonda w'eggulu kikolerwenga ddala olw'ennyumba ya Katonda w'eggulu; kubanga obusungu bwandibeereddewo ki eri obwakabaka bwa kabaka ne batabani be? 15EZR007.024 Also we certify you, that touching any of the priests and Levites, singers, porters, Nethinims, or ministers of this house of God, it shall not be lawful to impose toll, tribute, or custom, upon them. %%% Era tubannyonnyola ebya bakabona n'Abaleevi, abayimbi, abaggazi, Abanesinimu, oba abaddu b'ennyumba eno eya Katonda, bonna bwe benkana, tekiiyinzikenga kubasalira musolo newakubadde ebisalirwa newakubadde empooza. 15EZR007.025 And thou, Ezra, after the wisdom of thy God, that is in thine hand, set magistrates and judges, which may judge all the people that are beyond the river, all such as know the laws of thy God; and teach ye them that know them not. %%% Naawe, Ezera, ng'amagezi ga Katonda wo bwe gali agali mu mukono gwo, londa abaami n'abalamuzi balamulenga abantu bonna abali emitala w'omugga, bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo; n'oyo atagamanyi mumuyigirizenga. 15EZR007.026 And whosoever will not do the law of thy God, and the law of the king, let judgment be executed speedily upon him, whether it be unto death, or to banishment, or to confiscation of goods, or to imprisonment. %%% Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n'okunyiikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa. 15EZR007.027 Blessed be the LORD God of our fathers, which hath put such a thing as this in the king's heart, to beautify the house of the LORD which is in Jerusalem: %%% Mukama yeebazibwe Katonda wa bajjajjaffe, eyateeka ekigambo ekyenkanidde awo mu mutima gwa kabaka, okuyonja ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi; 15EZR007.028 And hath extended mercy unto me before the king, and his counsellors, and before all the king's mighty princes. And I was strengthened as the hand of the LORD my God was upon me, and I gathered together out of Israel chief men to go up with me. %%% era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka, n'abateesa naye ne mu maaso g'abakulu bonna aba kabaka ab'amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw'omukono gwa Mukama Katonda wange ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okwambuka nange. 15EZR008.001 These are now the chief of their fathers, and this is the genealogy of them that went up with me from Babylon, in the reign of Artaxerxes the king. %%% Era bano gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, era kuno kwe kuzaalibwa kw'abo abaayambuka nange okuva e Babulooni ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka. 15EZR008.002 Of the sons of Phinehas; Gershom: of the sons of Ithamar; Daniel: of the sons of David; Hattush. %%% Ku batabani ba Finekaasi, Gerusomu: ku batabani ba Isamali, Danyeri: ku batabani ba Dawudi, Kattusi. 15EZR008.003 Of the sons of Shechaniah, of the sons of Pharosh; Zechariah: and with him were reckoned by genealogy of the males an hundred and fifty. %%% Ku batabani ba Sekaniya; ku batabani ba Palosi, Zekkaliya; era wamu naye ne wabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasajja bwe kwali, kikumi mu ataano. 15EZR008.004 Of the sons of Pahathmoab; Elihoenai the son of Zerahiah, and with him two hundred males. %%% Ku batabani ba Pakasumowaabu, Erwenayi mutabani wa Zerakiya; era wamu naye abasajja ebikumi bibiri. 15EZR008.005 Of the sons of Shechaniah; the son of Jahaziel, and with him three hundred males. %%% Ku batabani ba Sekaniya, mutabani wa Yakazyeri; era wamu naye abasajja ebikumi bisatu. 15EZR008.006 Of the sons also of Adin; Ebed the son of Jonathan, and with him fifty males. %%% Ne ku batabani ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonasaani; era wamu naye abasajja amakumi ataauo. 15EZR008.007 And of the sons of Elam; Jeshaiah the son of Athaliah, and with him seventy males. %%% Ne ku batabani ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya, era awamu naye absajja nsanvu. 15EZR008.008 And of the sons of Shephatiah; Zebadiah the son of Michael, and with him fourscore males. %%% Ne ku batabani ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri; era wamu naye abasajja kinaana. 15EZR008.009 Of the sons of Joab; Obadiah the son of Jehiel, and with him two hundred and eighteen males. %%% Ku batabani ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri; era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi mu munaana. 15EZR008.010 And of the sons of Shelomith; the son of Josiphiah, and with him an hundred and threescore males. %%% Ne ku batabani ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya; era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga. 15EZR008.011 And of the sons of Bebai; Zechariah the son of Bebai, and with him twenty and eight males. %%% Ne ku batabani ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi; era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana. 15EZR008.012 And of the sons of Azgad; Johanan the son of Hakkatan, and with him an hundred and ten males. %%% Ne ku batabani ba Azugadi, Yokanani mutabani wa Kakkatani; era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi. 15EZR008.013 And of the last sons of Adonikam, whose names are these, Eliphelet, Jeiel, and Shemaiah, and with them threescore males. %%% Ne ku batabani ba Adonikamu ab'oluvannyuma; era gano ge gammnya gaabwe, Erifereti, Yeweri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga. 15EZR008.014 Of the sons also of Bigvai; Uthai, and Zabbud, and with them seventy males. %%% Ne ku batabani ba Biguvayi, Usayi ne Zabbudi; era wamu nabo abasajja nsanvu. 15EZR008.015 And I gathered them together to the river that runneth to Ahava; and there abode we in tents three days: and I viewed the people, and the priests, and found there none of the sons of Levi. %%% Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava; ne tusiisira ne tumalayo ennaku ssatu: ne nneetegereza abantu ne bakabona, ne ssirabayo n'omu ku batabani ba Leevi. 15EZR008.016 Then sent I for Eliezer, for Ariel, for Shemaiah, and for Elnathan, and for Jarib, and for Elnathan, and for Nathan, and for Zechariah, and for Meshullam, chief men; also for Joiarib, and for Elnathan, men of understanding. %%% Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, ne Erunasani, ne Yalibu, ne Erunasani, ne Nasani, ne Zekkaliya, ne Mesullamu, abasajja abakulu: era ne Yoyalibu ne Erunasani, abayigiriza. 15EZR008.017 And I sent them with commandment unto Iddo the chief at the place Casiphia, and I told them what they should say unto Iddo, and to his brethren the Nethinims, at the place Casiphia, that they should bring unto us ministers for the house of our God. %%% Ne mbatuma okugenda eri Iddo, omukulu w'ekifo Kasifiya; ne mbabuulira bye baba bagamba Iddo ne baganda be Abanesinimu, mu kifo ekyo Kasifiya, baleete gye tuli abaweereza ab'omu nnyumba ya Katonda waffe. 15EZR008.018 And by the good hand of our God upon us they brought us a man of understanding, of the sons of Mahli, the son of Levi, the son of Israel; and Sherebiah, with his sons and his brethren, eighteen; %%% Awo olw'omukono omulungi ogwa Katonda waffe ogwali ku ffe ne batuleetera omusajja ow'amagezi, ow'oku batabani ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri; ne Serebiya ne batabani be ne baganda be, kkumi na munaana; 15EZR008.019 And Hashabiah, and with him Jeshaiah of the sons of Merari, his brethren and their sons, twenty; %%% ne Kasabiya, era wamu naye Yesaya ow'oku batabani ba Merali, baganda be ne batabani baabwe, amakumi abiri; 15EZR008.020 Also of the Nethinims, whom David and the princes had appointed for the service of the Levites, two hundred and twenty Nethinims: all of them were expressed by name. %%% ne ku Banesinimu, Dawudi n'abakulu be baawaayo olw'okuweereza Abaleevi, Abanesinimu ebikumi bibiri mu abiri: bonna ne baatulwa amannya gaabwe. 15EZR008.021 Then I proclaimed a fast there, at the river of Ahava, that we might afflict ourselves before our God, to seek of him a right way for us, and for our little ones, and for all our substance. %%% Awo ne nnangirira okusiiba eyo, ku mugga Akava, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, okunoonya gy'ali ekkubo eggolokofu, eryaffe, era ery'abaana baffe abato, era ery'ebintu byaffe byonna. 15EZR008.022 For I was ashamed to require of the king a band of soldiers and horsemen to help us against the enemy in the way: because we had spoken unto the king, saying, The hand of our God is upon all them for good that seek him; but his power and his wrath is against all them that forsake him. %%% Kubanga ensonyi zankwata okusaba kabaka ekitongole ky'abaserikale n'abeebagala embalaasi okutuyamba eri abalabe mu kkubo: kubanga twali twogedde ne kabaka nti Omukono gwa Katonda waffe guba ku abo bonna abamunoonya olw'obulungi; naye obuyinza bwe n'obusungu bwe buli eri abo bonna abamuleka. 15EZR008.023 So we fasted and besought our God for this: and he was intreated of us. %%% Awo ne tusiiba ne tusaba Katonda ekigambo kino: ne tumwegayirira. 15EZR008.024 Then I separated twelve of the chief of the priests, Sherebiah, Hashabiah, and ten of their brethren with them, %%% Awo ne njawula kkumi na babiri ku bakulu ba bakabona, Serebiya, Kasabiya, n'ekkumi ku baganda baabwe wamu nabo, 15EZR008.025 And weighed unto them the silver, and the gold, and the vessels, even the offering of the house of our God, which the king, and his counsellors, and his lords, and all Israel there present, had offered: %%% ne mbagerera effeeza n'ezzaabu n'ebintu, kye kiweebwayo olw'ennyumba ya Katonda waffe, kabaka n'abateesa naye n'abakungu be ne Isiraeri yenna abaali eyo bye baawaayo: 15EZR008.026 I even weighed unto their hand six hundred and fifty talents of silver, and silver vessels an hundred talents, and of gold an hundred talents; %%% nze ne ngerera ddala mu mukono gwabwe talanta eza ffeeza lukaaga mu ataano, n'ebintu ebya ffeeza talanta kikumi; zaabu talanta kikumi; 15EZR008.027 Also twenty basons of gold, of a thousand drams; and two vessels of fine copper, precious as gold. %%% n'ebibya ebya zaabu amakumi abiri, ebya daliki lukumi; n'ebintu bibiri eby'ebikomo ebirungi ebizigule, eby'omuwendo nga zaabu. 15EZR008.028 And I said unto them, Ye are holy unto the LORD; the vessels are holy also; and the silver and the gold are a freewill offering unto the LORD God of your fathers. %%% Ne mbagamba nti Muli batukuvu eri Mukama, n'ebintu bitukuvu; ne ffeeza ne zaabu kye kiweebwayo ku bwammwe eri Mukama wa bajjajjammwe. 15EZR008.029 Watch ye, and keep them, until ye weigh them before the chief of the priests and the Levites, and chief of the fathers of Israel, at Jerusalem, in the chambers of the house of the LORD. %%% Mutunule mubikuume okutuusa lwe mulibipima mu maaso g'abakulu ba bakabona n'Abaleevi n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri mu Yerusaalemi mu bisenge eby'omu nnyumba ya Mukama. 15EZR008.030 So took the priests and the Levites the weight of the silver, and the gold, and the vessels, to bring them to Jerusalem unto the house of our God. %%% Awo bakabona n'Abaleevi ne batoola ffeeza ne zaabu n'ebintu ng'obuzito bwabyo bwe bwali okubireeta e Yerusaalemi mu nnyumba ya Katonda waffe. 15EZR008.031 Then we departed from the river of Ahava on the twelfth day of the first month, to go unto Jerusalem: and the hand of our God was upon us, and he delivered us from the hand of the enemy, and of such as lay in wait by the way. %%% Awo ne tuvaayo ku mugga Akava ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'olubereberye okugenda e Yerusaalemi: n'omukono gwa Katonda waffe gwali ku ffe, n'atuwonya mu mukono gw'omulabe n'omuteezi mu kkubo. 15EZR008.032 And we came to Jerusalem, and abode there three days. %%% Ne tujja e Yerusaalemi ne tumalayo ennaku ssatu. 15EZR008.033 Now on the fourth day was the silver and the gold and the vessels weighed in the house of our God by the hand of Meremoth the son of Uriah the priest; and with him was Eleazar the son of Phinehas; and with them was Jozabad the son of Jeshua, and Noadiah the son of Binnui, Levites; %%% Awo ku lunaku olw'okuna ne bapimira ffeeza ne zaabu n'ebintu mu nnyumba ya Katonda waffe okubikwasa mu mukono gwa Meremoosi mutabani wa Uliya kabona; era wamu naye waaliwo Ereyazaali mutabani wa Finekaasi; era wamu nabo waaliwo Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi; 15EZR008.034 By number and by weight of every one: and all the weight was written at that time. %%% byonna ng'omuwendo gwabyo era ng'obuzito bwabyo bwe byali; obuzito bwonna ne buwandiikibwa mu biro ebyo. 15EZR008.035 Also the children of those that had been carried away, which were come out of the captivity, offered burnt offerings unto the God of Israel, twelve bullocks for all Israel, ninety and six rams, seventy and seven lambs, twelve he goats for a sin offering: all this was a burnt offering unto the LORD. %%% Abaana b'obusibe abaakomawo ewaabwe gye baagoberwa ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente kkumi na bbiri olwa Isiraeri yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, abaana b'endiga nsanvu mu musanvu, embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ezo zonna ne ziba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 15EZR008.036 And they delivered the king's commissions unto the king's lieutenants, and to the governors on this side the river: and they furthered the people, and the house of God. %%% Ne bawa abaamasaza ebiragiro bya kabaka n'abo abafuga emitala w'omugga: ne bayamba abantu n'ennyumba ya Katonda. 15EZR009.001 Now when these things were done, the princes came to me, saying, The people of Israel, and the priests, and the Levites, have not separated themselves from the people of the lands, doing according to their abominations, even of the Canaanites, the Hittites, the Perizzites, the Jebusites, the Ammonites, the Moabites, the Egyptians, and the Amorites. %%% Awo ebigambo ebyo bwe byakolebwa, abakulu ne bansemberera nga boogera nti Abantu ba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde na mawanga ag'omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe, egy'Abakanani n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abayebusi n'Abamoni n'Abamowaabu n'Abamisiri n'Abamoli. 15EZR009.002 For they have taken of their daughters for themselves, and for their sons: so that the holy seed have mingled themselves with the people of those lands: yea, the hand of the princes and rulers hath been chief in this trespass. %%% Kubanga beewasirizza ku bawala baabwe, ne batabani baabwe babawasirizzaako; bwe kityo ezzadde ettukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi: weewaawo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusinze okwonoona bwe gutyo. 15EZR009.003 And when I heard this thing, I rent my garment and my mantle, and plucked off the hair of my head and of my beard, and sat down astonied. %%% Awo bwe nnawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enviiri ez'oku mutwe gwange n'ez'omu kirevu kyange, ne ntuula nga nsamaaliridde. 15EZR009.004 Then were assembled unto me every one that trembled at the words of the God of Israel, because of the transgression of those that had been carried away; and I sat astonied until the evening sacrifice. %%% Awo ne wakuŋŋaanira gye ndi bonna abaakankanira ebigambo bya Katonda wa Isiraeri olw'okusobya ku abo ab'obusibe; ne ntuula nga nsamaaliridde ne ntuusa ekitone eky'akawungeezi. 15EZR009.005 And at the evening sacrifice I arose up from my heaviness; and having rent my garment and my mantle, I fell upon my knees, and spread out my hands unto the LORD my God, %%% Awo ekitone eky'akawungeezi bwe kyaweebwayo ne ngolokoka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekyambalo kyange n'omunagiro gwange nga biyulise; ne nfukamira ku maviivi gange ne nnyanjuluza engalo zange eri Mukama Katonda wange; 15EZR009.006 And said, O my God, I am ashamed and blush to lift up my face to thee, my God: for our iniquities are increased over our head, and our trespass is grown up unto the heavens. %%% ne njogera nti Ai Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, amaaso gange ne gamyuka okuyimusa amaaso gange gy'oli, Katonda wange: kubanga obutali butuukirivu bwaffe bweyongedde okukira omutwe gwaffe, n'omusango gwaffe gukuze gutuuse mu ggulu. 15EZR009.007 Since the days of our fathers have we been in a great trespass unto this day; and for our iniquities have we, our kings, and our priests, been delivered into the hand of the kings of the lands, to the sword, to captivity, and to a spoil, and to confusion of face, as it is this day. %%% Okuva ku nnaku za bajjajjaffe nga tuzza musango munene nnyo ne leero; era olw'obutali butuukirivu bwaffe kyetwava tugabulwa, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mukono gwa bakabaka b'ensi, eri ekitala, eri obusibe n'eri okunyagibwa n'amaaso gaffe okukwatibwa ensonyi nga leero. 15EZR009.008 And now for a little space grace hath been shewed from the LORD our God, to leave us a remnant to escape, and to give us a nail in his holy place, that our God may lighten our eyes, and give us a little reviving in our bondage. %%% Ne kaakano akaseera katono ekisa kiragiddwa ekiva eri Mukama Katonda waffe, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa enninga mu kifo kye ekitukuvu, Katonda waffe ayakire amaaso gaffe n'okutuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe. 15EZR009.009 For we were bondmen; yet our God hath not forsaken us in our bondage, but hath extended mercy unto us in the sight of the kings of Persia, to give us a reviving, to set up the house of our God, and to repair the desolations thereof, and to give us a wall in Judah and in Jerusalem. %%% Kubanga tuli basibe; naye Katonda waffe tatwabulidde mu buddu bwaffe, naye atwongeddeko okusaasirwa mu maaso ga bakabaka b'e Buperusi, okutuwa okuweeraweera, okusimba ennyumba ya Katonda waffe n'okuddaabiriza ebyayo ebyagwa n'okutuwa bbugwe mu Yuda ne mu Ycrusaalemi. 15EZR009.010 And now, O our God, what shall we say after this? for we have forsaken thy commandments, %%% Kale nno, ai Katonda waffe, tunaayogera ki oluvannyuma lwa bino? kubanga twaleka ebiragiro byo, 15EZR009.011 Which thou hast commanded by thy servants the prophets, saying, The land, unto which ye go to possess it, is an unclean land with the filthiness of the people of the lands, with their abominations, which have filled it from one end to another with their uncleanness. %%% bye walagirira mu baddu bo bannabbi ng'oyogera nti Ensi gye muyingira okugirya nsi eteri nnongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, abaagijjuzizza obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi. 15EZR009.012 Now therefore give not your daughters unto their sons, neither take their daughters unto your sons, nor seek their peace or their wealth for ever: that ye may be strong, and eat the good of the land, and leave it for an inheritance to your children for ever. %%% Kale nno temuwanga bawala bammwe batabani baabwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, so temunoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe emirembe gyonna: mulyoke mube n'amaanyi mulye obulungi bw'ensi, mugirekere abaana bammwe okuba obusika emirembe gyonna. 15EZR009.013 And after all that is come upon us for our evil deeds, and for our great trespass, seeing that thou our God hast punished us less than our iniquities deserve, and hast given us such deliverance as this; %%% Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, kubanga ggwe, Katonda waffe, watubonerezaako katono so si ng'obutali butuukirivu bwaffe bwe bwasaanira, n'otuwa ekitundu ekyenkana awo, 15EZR009.014 Should we again break thy commandments, and join in affinity with the people of these abominations? wouldest not thou be angry with us till thou hadst consumed us, so that there should be no remnant nor escaping? %%% tulisobya nate amateeka go ne tuba bakoddomi b'amawanga agakola eby'emizizo? tewanditusunguwalidde okutuusa lwe wandituzikirizza, obutabaawo kitundu ekifisseewo newakubadde ow'okuwona? 15EZR009.015 O LORD God of Israel, thou art righteous: for we remain yet escaped, as it is this day: behold, we are before thee in our trespasses: for we cannot stand before thee because of this. %%% Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ggwe mutuukirivu; kubanga ffe tusigadde ekitundu ekifisseewo ekiwonye nga bwe kiri leero: laba, tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango; kubanga tewali ayinza okuyimirira mu maaso go olw'ekyo. 15EZR010.001 Now when Ezra had prayed, and when he had confessed, weeping and casting himself down before the house of God, there assembled unto him out of Israel a very great congregation of men and women and children: for the people wept very sore. %%% Awo Ezera bwe yali ng'asaba ng'ayatula ng'akaaba amaziga ng'avuunamira mu maaso g'ennyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira gy'ali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene ennyo eky'abasajja n'abakazi n'abaana abato: kubanga abantu baakaaba nnyo nnyini amaziga. 15EZR010.002 And Shechaniah the son of Jehiel, one of the sons of Elam, answered and said unto Ezra, We have trespassed against our God, and have taken strange wives of the people of the land: yet now there is hope in Israel concerning this thing. %%% Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri omu ku batabani ba Eramu, n'addamu n'agamba Ezera nti Twonoonye Katonda waffe, ne tuwasa abakazi bannaggwanga ab'oku mawanga ag'omu nsi: naye kaakano essuubi weeriri eri Isiraeri olw'ekyo. 15EZR010.003 Now therefore let us make a covenant with our God to put away all the wives, and such as are born of them, according to the counsel of my lord, and of those that tremble at the commandment of our God; and let it be done according to the law. %%% Kale nno tulagaane endagaano ne Katonda waffe okugoba abakazi bonna n'abo be baazaala, ng'okuteesa bwe kuli okwa mukama wange n'abo abakankanira ekiragiro kya Katonda waffe; era kikolebwe ng'amateeka bwe gali. 15EZR010.004 Arise; for this matter belongeth unto thee: we also will be with thee: be of good courage, and do it. %%% Golokoka; kubanga ekigambo kikyo, naffe tuli naawe: guma omwoyo okikole. 15EZR010.005 Then arose Ezra, and made the chief priests, the Levites, and all Israel, to swear that they should do according to this word. And they sware. %%% Awo Ezera n'alyoka agolokoka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenna, nga banaakolanga ng'ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira. 15EZR010.006 Then Ezra rose up from before the house of God, and went into the chamber of Johanan the son of Eliashib: and when he came thither, he did eat no bread, nor drink water: for he mourned because of the transgression of them that had been carried away. %%% Awo Ezera n'alyoka agolokoka okuva mu maaso g'ennyumba ya Katonda, n'ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu: awo bwe yatuukayo, n'atalya mmere so teyanywa mazzi: kubanga yanakuwala olw'okusobya ku abo ab'obusibe. 15EZR010.007 And they made proclamation throughout Judah and Jerusalem unto all the children of the captivity, that they should gather themselves together unto Jerusalem; %%% Ne balangira okubunya Yuda ne Yerusaalemi abaana bonna ab'obusibe bakuŋŋaanire e Yerusaalemi; 15EZR010.008 And that whosoever would not come within three days, according to the counsel of the princes and the elders, all his substance should be forfeited, and himself separated from the congregation of those that had been carried away. %%% era buli atalijja mu bbanga ery'ennaku ssatu, ng'okuteesa kw'abakulu n'abakadde bwe kwali, afiirwe ebintu bye byonna, naye yennyini ayawulibwe mu kibiina eky'obusibe. 15EZR010.009 Then all the men of Judah and Benjamin gathered themselves together unto Jerusalem within three days. It was the ninth month, on the twentieth day of the month; and all the people sat in the street of the house of God, trembling because of this matter, and for the great rain. %%% Awo abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga ery'ennaku essatu; gwali mwezi gwa mwenda, ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi: abantu bonna ne batuula mu kifo ekigazi mu maaso g'ennyumba ya Katonda, nga bakankana olw'ekigambo ekyo n'olw'enkuba ennyingi. 15EZR010.010 And Ezra the priest stood up, and said unto them, Ye have transgressed, and have taken strange wives, to increase the trespass of Israel. %%% Awo Ezera kabona n'ayimirira n'abagamba nti Mwasobya ne muwasa abakazi bannaggwanga okwongera ku Isiraeri omusango. 15EZR010.011 Now therefore make confession unto the LORD God of your fathers, and do his pleasure: and separate yourselves from the people of the land, and from the strange wives. %%% Kale nno mwatule eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe mukole ebyo by'asiima: mweyawule n'amawanga ag'omu nsi n'abakazi bannaggwanga. 15EZR010.012 Then all the congregation answered and said with a loud voice, As thou hast said, so must we do. %%% Awo ekibiina kyonna ne baddamu ne boogera n'eddoboozi ddene nti Nga bw'oyogedde ebigambo byaffe, bwe kityo bwe kitugwanidde okukola. 15EZR010.013 But the people are many, and it is a time of much rain, and we are not able to stand without, neither is this a work of one day or two: for we are many that have transgressed in this thing. %%% Naye abantu tuli bangi, era, bye biro eby'enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru, so guno mulimu gwa lunaku lumu oba bbiri: kubanga twasobya nnyo mu kigambo ekyo. 15EZR010.014 Let now our rulers of all the congregation stand, and let all them which have taken strange wives in our cities come at appointed times, and with them the elders of every city, and the judges thereof, until the fierce wrath of our God for this matter be turned from us. %%% Kale abakulu baffe balonderwe ekibiina kyonna, n'abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasizza abakazi bannaggwanga bajjire mu biseera ebiteekebwawo, era wamu nabo abakadde ba buli kibuga, n'abalamuzi baakyo, okutuusa Katonda waffe lw'alikyusa ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaako, okutuusa ekigambo kino lwe kinaamalibwa. 15EZR010.015 Only Jonathan the son of Asahel and Jahaziah the son of Tikvah were employed about this matter: and Meshullam and Shabbethai the Levite helped them. %%% Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bokka ne bayimirira okugaana ekigambo kino: Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi ne babayamba. 15EZR010.016 And the children of the captivity did so. And Ezra the priest, with certain chief of the fathers, after the house of their fathers, and all of them by their names, were separated, and sat down in the first day of the tenth month to examine the matter. %%% Awo abaana b'obusibe ne bakola bwe batyo. Awo Ezera kabona n'abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era bonna ng'amannya gaabwe bwe gaali, ne bayawulibwa; ne batuula ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi okukebera ekigambo ekyo. 15EZR010.017 And they made an end with all the men that had taken strange wives by the first day of the first month. %%% Ne bamala ebigambo by'abasajja bonna abaali bawasizza abakazi bannaggwanga nga tewannayitawo lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye. 15EZR010.018 And among the sons of the priests there were found that had taken strange wives: namely, of the sons of Jeshua the son of Jozadak, and his brethren; Maaseiah, and Eliezer, and Jarib, and Gedaliah. %%% Ne mu batabani ba bakabona ne mulabika abaali bawasizza abakazi bannaggwanga: ku batabani ba Yesuwa, mutabani wa Yozadaki ne baganda be, Maaseya ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya. 15EZR010.019 And they gave their hands that they would put away their wives; and being guilty, they offered a ram of the flock for their trespass. %%% Ne bawaayo emikono gyabwe nga banaagoba bakazi baabwe; era kubanga omusango gubasinze ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo olw'omusango gwabwe. 15EZR010.020 And of the sons of Immer; Hanani, and Zebadiah. %%% Ne ku batabani ba Immeri; Kanani ne Zebadiya. 15EZR010.021 And of the sons of Harim; Maaseiah, and Elijah, and Shemaiah, and Jehiel, and Uzziah. %%% Ne ku batabani ba Kalimu; Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri, ne Uzziya. 15EZR010.022 And of the sons of Pashur; Elioenai, Maaseiah, Ishmael, Nethaneel, Jozabad, and Elasah. %%% Ne ku batabani ba Pasukuli; Eriwenayi, Maaseya, Isimaeri, Nesaneri, Yozabadi, ne Erasa. 15EZR010.023 Also of the Levites; Jozabad, and Shimei, and Kelaiah, (the same is Kelita,) Pethahiah, Judah, and Eliezer. %%% Ne ku Baleevi; Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya (oyo ye Kerita), Pesakiya, Yuda, ne Eryeza. 15EZR010.024 Of the singers also; Eliashib: and of the porters; Shallum, and Telem, and Uri. %%% Ne ku bayimbi; Eriyasibu: ne ku baggazi; Sallumu, ne Teremu ne Uli. 15EZR010.025 Moreover of Israel: of the sons of Parosh; Ramiah, and Jeziah, and Malchiah, and Miamin, and Eleazar, and Malchijah, and Benaiah. %%% Ne ku Isiraeri: ku batabani ba Palosi; Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya ne Miyamini, ne Ereyazaali, ne Malukiya, ne Benaya. 15EZR010.026 And of the sons of Elam; Mattaniah, Zechariah, and Jehiel, and Abdi, and Jeremoth, and Eliah. %%% Ne ku batabani ba Eramu; Mattaniya, Zekkaliya, ne Yekyeri, ne Abudi, ne Yeremoosi, ne Eriya. 15EZR010.027 And of the sons of Zattu; Elioenai, Eliashib, Mattaniah, and Jeremoth, and Zabad, and Aziza. %%% Ne ku batabani ba Zattu; Eriwenayi, Eriyabu, Mattaniya, ne Yeremoosi, ne Zabadi ne Aziza. 15EZR010.028 Of the sons also of Bebai; Jehohanan, Hananiah, Zabbai, and Athlai. %%% Ne ku batabani ba Bebayi; Yekokanani, Kananiya, Zabbayi, Asulaayi. 15EZR010.029 And of the sons of Bani; Meshullam, Malluch, and Adaiah, Jashub, and Sheal, and Ramoth. %%% Ne ku batabani ba Bani; Mesullamu, Malluki, ne Adaya, Yasubu, ne Seyaali, Yeremoosi. 15EZR010.030 And of the sons of Pahathmoab; Adna, and Chelal, Benaiah, Maaseiah, Mattaniah, Bezaleel, and Binnui, and Manasseh. %%% Ne ku batabani ba Pakasumowaabu; Aduna, ne Kerali, Benaya, Maaseya, Mattaniya, Bezaleeri, ne Binnuyi, ne Manase. 15EZR010.031 And of the sons of Harim; Eliezer, Ishijah, Malchiah, Shemaiah, Shimeon, %%% Ne ku batabani ba Kalimu; Eryeza, Isusiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni; 15EZR010.032 Benjamin, Malluch, and Shemariah. %%% Benyamini, Malluki, Semaliya. 15EZR010.033 Of the sons of Hashum; Mattenai, Mattathah, Zabad, Eliphelet, Jeremai, Manasseh, and Shimei. %%% Ku batabani ba Kasumu; Mattenayi, Mattata, Zabadi, Erifereti, Yeremayi, Manase, Simeeyi. 15EZR010.034 Of the sons of Bani; Maadai, Amram, and Uel, %%% Ku batabani ba Baani; Maadayi, Amulaamu, ne Uweri; 15EZR010.035 Benaiah, Bedeiah, Chelluh, %%% Benaya; Bedeya, Keruki; 15EZR010.036 Vaniah, Meremoth, Eliashib, %%% Vaniya, Meremoosi, Eriyasibu; 15EZR010.037 Mattaniah, Mattenai, and Jaasau, %%% Mattaniya, Mattenayi, ne Yaasu; 15EZR010.038 And Bani, and Binnui, Shimei, %%% ne Baani, ne Binnuyi, Simeeyi; 15EZR010.039 And Shelemiah, and Nathan, and Adaiah, %%% ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya; 15EZR010.040 Machnadebai, Shashai, Sharai, %%% Makunadebayi, Sasayi, Salaayi; 15EZR010.041 Azareel, and Shelemiah, Shemariah, %%% Azaleri, ne Seremiya, Semaliya; 15EZR010.042 Shallum, Amariah, and Joseph. %%% Sallumu, Amaliya, Yusufu. 15EZR010.043 Of the sons of Nebo; Jeiel, Mattithiah, Zabad, Zebina, Jadau, and Joel, Benaiah. %%% Ku batabani ba Nebo; Yeyeri, Mattisiya, Zabadi, Zebina, Iddo, ne Yoweeri, Benaya. 15EZR010.044 All these had taken strange wives: and some of them had wives by whom they had children. %%% Abo bonna baali bawasizza abakazi bannaggwanga: era abamu ku bo baali balina abakazi be baali bazademu abaana. 16NEH001.001 The words of Nehemiah the son of Hachaliah. And it came to pass in the month Chisleu, in the twentieth year, as I was in Shushan the palace, %%% Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya. Awo olwatuuka mu mwezi Kisulevu mu mwaka ogw'amakumi abiri, bwe nnali nga ndi mu Susani olubiri, 16NEH001.002 That Hanani, one of my brethren, came, he and certain men of Judah; and I asked them concerning the Jews that had escaped, which were left of the captivity, and concerning Jerusalem. %%% Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebigambo by'Abayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi. 16NEH001.003 And they said unto me, The remnant that are left of the captivity there in the province are in great affliction and reproach: the wall of Jerusalem also is broken down, and the gates thereof are burned with fire. %%% Ne baŋŋamba nti Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa: era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro. 16NEH001.004 And it came to pass, when I heard these words, that I sat down and wept, and mourned certain days, and fasted, and prayed before the God of heaven, %%% Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne nnakuwalira ennaku ezimu; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu, 16NEH001.005 And said, I beseech thee, O LORD God of heaven, the great and terrible God, that keepeth covenant and mercy for them that love him and observe his commandments: %%% ne njogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye: 16NEH001.006 Let thine ear now be attentive, and thine eyes open, that thou mayest hear the prayer of thy servant, which I pray before thee now, day and night, for the children of Israel thy servants, and confess the sins of the children of Israel, which we have sinned against thee: both I and my father's house have sinned. %%% okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona: weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona. 16NEH001.007 We have dealt very corruptly against thee, and have not kept the commandments, nor the statutes, nor the judgments, which thou commandedst thy servant Moses. %%% Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro newakubadde amateeka newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa. 16NEH001.008 Remember, I beseech thee, the word that thou commandedst thy servant Moses, saying, If ye transgress, I will scatter you abroad among the nations: %%% Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti Bwe munaasobyanga, naabasaasaanyizanga ddala mu mawanga: 16NEH001.009 But if ye turn unto me, and keep my commandments, and do them; though there were of you cast out unto the uttermost part of the heaven, yet will I gather them from thence, and will bring them unto the place that I have chosen to set my name there. %%% naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋaanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange. 16NEH001.010 Now these are thy servants and thy people, whom thou hast redeemed by thy great power, and by thy strong hand. %%% Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi. 16NEH001.011 O LORD, I beseech thee, let now thine ear be attentive to the prayer of thy servant, and to the prayer of thy servants, who desire to fear thy name: and prosper, I pray thee, thy servant this day, and grant him mercy in the sight of this man. For I was the king's cupbearer. %%% Ai Mukama, nkwegayiidde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo n’okw’abaddu bo abasanyukira okutya erinnya lyo: owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g'omusajja ono. (Era nali ndi musenero wa kabaka.) 16NEH002.001 And it came to pass in the month Nisan, in the twentieth year of Artaxerxes the king, that wine was before him: and I took up the wine, and gave it unto the king. Now I had not been beforetime sad in his presence. %%% Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwaliranga mu maaso ge. 16NEH002.002 Wherefore the king said unto me, Why is thy countenance sad, seeing thou art not sick? this is nothing else but sorrow of heart. Then I was very sore afraid, %%% Kabaka n'aŋŋamba nti Kiki ekinakuwazizza amaaso go, okulwala nga tolwadde? kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw'omu mutima. Awo ne ndyoka ntya nnyo. 16NEH002.003 And said unto the king, Let the king live for ever: why should not my countenance be sad, when the city, the place of my fathers' sepulchres, lieth waste, and the gates thereof are consumed with fire? %%% Ne ŋŋamba kabaka nti Kakaba abe omulamu emirembe gyonna: kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala, ekibuga, ekifo eky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro? 16NEH002.004 Then the king said unto me, For what dost thou make request? So I prayed to the God of heaven. %%% Awo kabaka n'aŋŋamba nti Weegayirira ki? Awo ne nsaba Katonda w'eggulu. 16NEH002.005 And I said unto the king, If it please the king, and if thy servant have found favour in thy sight, that thou wouldest send me unto Judah, unto the city of my fathers' sepulchres, that I may build it. %%% Ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe. 16NEH002.006 And the king said unto me, (the queen also sitting by him,) For how long shall thy journey be? and when wilt thou return? So it pleased the king to send me; and I set him a time. %%% Kabaka n'aŋŋamba, (kaddulubaale naye ng'atudde naye,) nti Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? era olidda ddi? Awo kabaka n'asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera. 16NEH002.007 Moreover I said unto the king, If it please the king, let letters be given me to the governors beyond the river, that they may convey me over till I come into Judah; %%% Era nate ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, mpeebwe ebbaluwa eri abaamasaza abali emitala w'omugga, bampiseemu ntuuke mu Yuda; 16NEH002.008 And a letter unto Asaph the keeper of the king's forest, that he may give me timber to make beams for the gates of the palace which appertained to the house, and for the wall of the city, and for the house that I shall enter into. And the king granted me, according to the good hand of my God upon me. %%% n'ebbaluwa eri Asafu omukuumi w'ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez'enzigi z'ekigo eky'ennyumba era eza bbugwe w'ekibuga n'ez'ennyumba gye ndiyingira. Kabaka n'ampa olw'omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze. 16NEH002.009 Then I came to the governors beyond the river, and gave them the king's letters. Now the king had sent captains of the army and horsemen with me. %%% Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w'omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b'eggye n'abeebagala embalaasi. 16NEH002.010 When Sanballat the Horonite, and Tobiah the servant, the Ammonite, heard of it, it grieved them exceedingly that there was come a man to seek the welfare of the children of Israel. %%% Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri. 16NEH002.011 So I came to Jerusalem, and was there three days. %%% Awo ne njija e Yerusaalemi ne mmalayo ennaku ssatu. 16NEH002.012 And I arose in the night, I and some few men with me; neither told I any man what my God had put in my heart to do at Jerusalem: neither was there any beast with me, save the beast that I rode upon. %%% Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi: so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagala. 16NEH002.013 And I went out by night by the gate of the valley, even before the dragon well, and to the dung port, and viewed the walls of Jerusalem, which were broken down, and the gates thereof were consumed with fire. %%% Ne nvaamu kiro mu luggi olw'omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery'oluzzi olw'ogusota n'omulyango ogw'obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro. 16NEH002.014 Then I went on to the gate of the fountain, and to the king's pool: but there was no place for the beast that was under me to pass. %%% Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw'oluzzi n'ekidiba kya kabaka: naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly'eneeyitamu. 16NEH002.015 Then went I up in the night by the brook, and viewed the wall, and turned back, and entered by the gate of the valley, and so returned. %%% Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw'omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo. 16NEH002.016 And the rulers knew not whither I went, or what I did; neither had I as yet told it to the Jews, nor to the priests, nor to the nobles, nor to the rulers, nor to the rest that did the work. %%% Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya newakubadde bakabona newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala abaakola omulimu. 16NEH002.017 Then said I unto them, Ye see the distress that we are in, how Jerusalem lieth waste, and the gates thereof are burned with fire: come, and let us build up the wall of Jerusalem, that we be no more a reproach. %%% Awo ne mbagamba nti Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi bwe kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro: mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume. 16NEH002.018 Then I told them of the hand of my God which was good upon me; as also the king's words that he had spoken unto me. And they said, Let us rise up and build. So they strengthened their hands for this good work. %%% Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti Tugolokoke tuzimbe. Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi 16NEH002.019 But when Sanballat the Horonite, and Tobiah the servant, the Ammonite, and Geshem the Arabian, heard it, they laughed us to scorn, and despised us, and said, What is this thing that ye do? will ye rebel against the king? %%% Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti Kigambo ki kino kye mukola? mwagala okujeemera kabaka? 16NEH002.020 Then answered I them, and said unto them, The God of heaven, he will prosper us; therefore we his servants will arise and build: but ye have no portion, nor right, nor memorial, in Jerusalem. %%% Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kyetuliva tugolokoka ne tuzimba naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi. 16NEH003.001 Then Eliashib the high priest rose up with his brethren the priests, and they builded the sheep gate; they sanctified it, and set up the doors of it; even unto the tower of Meah they sanctified it, unto the tower of Hananeel. %%% Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu n'agolokoka wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba omulyango ogw'endiga; ne bagutukuza, ne basimba enzigi zaagwo; okutuuka ku kigo kya Kammeya kwe baakoma okugutukuza, okutuuka ku kigo kya Kananeri. 16NEH003.002 And next unto him builded the men of Jericho. And next to them builded Zaccur the son of Imri. %%% Era abasajja ab'e Yeriko be baamuddirira okuzimba. Era Zakkuli mutabani wa Imuli ye yabaddirira okuzimba. 16NEH003.003 But the fish gate did the sons of Hassenaah build, who also laid the beams thereof, and set up the doors thereof, the locks thereof, and the bars thereof. %%% N'omulyango ogw'ebyennyanja batabani ba Kassenaa be baaguzimba; baateekawo emiti gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo. 16NEH003.004 And next unto them repaired Meremoth the son of Urijah, the son of Koz. And next unto them repaired Meshullam the son of Berechiah, the son of Meshezabeel. And next unto them repaired Zadok the son of Baana. %%% Era Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Mesullamu mutabani wa Berekiya mutabani wa Mesezaberi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Zadoki mutabani wa Baana ye yabaddirira okuddaabiriza. 16NEH003.005 And next unto them the Tekoites repaired; but their nobles put not their necks to the work of their LORD. %%% Era Abatekowa be baabaddirira okuddaabiriza; naye abakungu baabwe tebassaawo nsingo ku mulimu gwa mukama waabwe. 16NEH003.006 Moreover the old gate repaired Jehoiada the son of Paseah, and Meshullam the son of Besodeiah; they laid the beams thereof, and set up the doors thereof, and the locks thereof, and the bars thereof. %%% N'omulyango ogw'edda Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya be baaguddaabiriza; baateekawo emiti gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo n'ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo. 16NEH003.007 And next unto them repaired Melatiah the Gibeonite, and Jadon the Meronothite, the men of Gibeon, and of Mizpah, unto the throne of the governor on this side the river. %%% Era Meratiya Omugibyoni ne Yadoni Omumeronoosi, abasajja ab'e Gibyoni, n'ab'e Mizupa, eky'omu ssaza ly'omukulu w'emitala w'omugga, be baabaddirira okuddaabiriza. 16NEH003.008 Next unto him repaired Uzziel the son of Harhaiah, of the goldsmiths. Next unto him also repaired Hananiah the son of one of the apothecaries, and they fortified Jerusalem unto the broad wall. %%% Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, abaweesi ba zaabu, be baamuddirira okuddaabiriza. Era Kananiya omu ku bafumba kalifuwa ye yamuddirira okuddaabiriza, ne banyweza Yerusaalemi, okutuuka ku bbugwe omugazi. 16NEH003.009 And next unto them repaired Rephaiah the son of Hur, the ruler of the half part of Jerusalem. %%% Era Lefaya mutabani wa Kuuli omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi ye yabaddirira okuddaabiriza. 16NEH003.010 And next unto them repaired Jedaiah the son of Harumaph, even over against his house. And next unto him repaired Hattush the son of Hashabniah. %%% Era Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba ye ye. Era Kattusi mutabani wa Kasabuneya ye yamuddirira okuddaabiriza. 16NEH003.011 Malchijah the son of Harim, and Hashub the son of Pahathmoab, repaired the other piece, and the tower of the furnaces. %%% Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekituli ekirala n'ekigo eky'ebikoomi. 16NEH003.012 And next unto him repaired Shallum the son of Halohesh, the ruler of the half part of Jerusalem, he and his daughters. %%% Era Sallumu mutabani wa Kallokesi omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi, ye ne bawala be, ye yamuddirira okuddaabiriza. 16NEH003.013 The valley gate repaired Hanun, and the inhabitants of Zanoah; they built it, and set up the doors thereof, the locks thereof, and the bars thereof, and a thousand cubits on the wall unto the dung gate. %%% Omulyango ogw'omu kiwonvu Kanuni n'abaali mu Zanowa be baaguddaabiriza; ne baguzimba ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, n'ekituli eky'oku bbugwe eky'emikono olukumi okutuuka ku mulyango ogw'obusa. 16NEH003.014 But the dung gate repaired Malchiah the son of Rechab, the ruler of part of Bethhaccerem; he built it, and set up the doors thereof, the locks thereof, and the bars thereof. %%% N'omulyango ogw'obusa Malukiya mutabani wa Lekabu omukulu w'essaza ly'e Besukakkeremu ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo. 16NEH003.015 But the gate of the fountain repaired Shallun the son of Colhozeh, the ruler of part of Mizpah; he built it, and covered it, and set up the doors thereof, the locks thereof, and the bars thereof, and the wall of the pool of Siloah by the king's garden, and unto the stairs that go down from the city of David. %%% N'omulyango ogw'oluzzi Salluni mutabani wa Kolukoze omukulu w'essaza ly'e Mizupa ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'agubikkako n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, ne bbugwe ow'oku kidiba kya Sera ekiriraanye olusuku lwa kabaka okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. 16NEH003.016 After him repaired Nehemiah the son of Azbuk, the ruler of the half part of Bethzur, unto the place over against the sepulchres of David, and to the pool that was made, and unto the house of the mighty. %%% Nekkemiya mutabani wa Azubuki omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Besuzuli ye yamuddirira okuddaabiriza okutuuka ku kifo ekyolekera amalaalo ga Dawudi nokutuuka ku kidiba ekyasimibwa n'okutuuka ku nnyumba y'abasajja ab'amaanyi. 16NEH003.017 After him repaired the Levites, Rehum the son of Bani. Next unto him repaired Hashabiah, the ruler of the half part of Keilah, in his part. %%% Abaleevi, Lekumu mutabani wa Baani, be baamuddirira okuddaabiriza. Kasabiya omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira ye yamuddirira okuddaabiriza olw'essaza lye. 16NEH003.018 After him repaired their brethren, Bavai the son of Henadad, the ruler of the half part of Keilah. %%% Baganda baabwe, Bawayi mutabani wa Kenadadi omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira, be baamuddirira okuddaabiriza. 16NEH003.019 And next to him repaired Ezer the son of Jeshua, the ruler of Mizpah, another piece over against the going up to the armoury at the turning of the wall. %%% Ne Ezeri mutabani wa Yesuwa omukulu w’e Mizupa ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera awalinnyirwa mu ggwanika ery'ebyokulwanyisa (bbugwe) w'awetera. 16NEH003.020 After him Baruch the son of Zabbai earnestly repaired the other piece, from the turning of the wall unto the door of the house of Eliashib the high priest. %%% Baluki mutabani wa Zabbayi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ng'anyiikira nnyo, okuva bbugwe w'awetera okutuuka ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu. 16NEH003.021 After him repaired Meremoth the son of Urijah the son of Koz another piece, from the door of the house of Eliashib even to the end of the house of Eliashib. %%% Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba ya Eriyasibu. 16NEH003.022 And after him repaired the priests, the men of the plain. %%% Ne bakabona abasajja ab'omu lusenyi be baamuddirira okuddaabiriza. 16NEH003.023 After him repaired Benjamin and Hashub over against their house. After him repaired Azariah the son of Maaseiah the son of Ananiah by his house. %%% Benyamini ne Kassubu be baabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya mutabani wa Ananiya ye yabaddirira okuddaabiriza ku mabbali g'ennyumba ye ye. 16NEH003.024 After him repaired Binnui the son of Henadad another piece, from the house of Azariah unto the turning of the wall, even unto the corner. %%% Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka bbugwe w'awetera ne ku nsonda. 16NEH003.025 Palal the son of Uzai, over against the turning of the wall, and the tower which lieth out from the king's high house, that was by the court of the prison. After him Pedaiah the son of Parosh. %%% Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza okwolekera bbugwe w'awetera n'ekigo ekyazimbibwa ku nnyumba ey'engulu eya kabaka eriraanye oluggya olw'abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi ye yamuddirira okuddaabiriza. 16NEH003.026 Moreover the Nethinims dwelt in Ophel, unto the place over against the water gate toward the east, and the tower that lieth out. %%% (Era Abanesinimu baabanga mu Oferi okutuuka ku kifo ekyolekera omulyango ogw'amazzi ebuvanjuba n'ekigo ekyazimbibwako.) 16NEH003.027 After them the Tekoites repaired another piece, over against the great tower that lieth out, even unto the wall of Ophel. %%% Abatekowa be baamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera ekigo ekinene ekyazimbibwako n'okutuuka ku bbugwe w’e Oferi. 16NEH003.028 From above the horse gate repaired the priests, every one over against his house. %%% Engulu w'omulyango ogw'embalaasi bakabona we baddaabiriza, buli muntu okwolekera ennyumba ye ye. 16NEH003.029 After them repaired Zadok the son of Immer over against his house. After him repaired also Shemaiah the son of Shechaniah, the keeper of the east gate. %%% Zadoki mutabani wa Immeri ye yabaddirira okuddaabiriza, okwolekera ennyumba ye ye. Ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba ye yamuddirira okuddaabiriza. 16NEH003.030 After him repaired Hananiah the son of Shelemiah, and Hanun the sixth son of Zalaph, another piece. After him repaired Meshullam the son of Berechiah over against his chamber. %%% Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana ow'omukaaga owa Zalafu be bamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala. Mesullamu mutabani wa Berekiya ye yamuddirira okuddaabiriza okwolekera ekisenge kye. 16NEH003.031 After him repaired Malchiah the goldsmith's son unto the place of the Nethinims, and of the merchants, over against the gate Miphkad, and to the going up of the corner. %%% Malukiya omu ku baweesi ba zaabu ye yamuddirira okuddaabiriza okutuusa ku nnyumba ey'Abanesinimu n'ey'abasuubuzi okwolekera omulyango gwa Kammifukaadi n'okutuusa awalinnyirwa ku nsonda. 16NEH003.032 And between the going up of the corner unto the sheep gate repaired the goldsmiths and the merchants. %%% Era wakati w'awalinnyirwa ku nsonda n'omulyango ogw'endiga abaweesi ba zaabu n'abasuubuzi we baddaabiriza. 16NEH004.001 But it came to pass, that when Sanballat heard that we builded the wall, he was wroth, and took great indignation, and mocked the Jews. %%% Naye olwatuuka Sanubalaati bwe yawulira nga tuzimba bbugwe, n'asunguwala n'abaako ekiruyi kingi n'aduulira Abayudaaya. 16NEH004.002 And he spake before his brethren and the army of Samaria, and said, What do these feeble Jews? will they fortify themselves? will they sacrifice? will they make an end in a day? will they revive the stones out of the heaps of the rubbish which are burned? %%% N'ayogerera mu maaso ga baganda be n'eggye ly'e Samaliya n'agamba nti Abayudaaya bano abanafu bakola ki? baagala okwekomera? baagala okuwaayo ssaddaaka? baagala okumalira ku lunaku lumu? baagala okuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby'ebisasiro, kubanga gookeddwa? 16NEH004.003 Now Tobiah the Ammonite was by him, and he said, Even that which they build, if a fox go up, he shall even break down their stone wall. %%% Awo Tobiya Omwamoni yali naye n'ayogera nti N'ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow'amayinja. 16NEH004.004 Hear, O our God; for we are despised: and turn their reproach upon their own head, and give them for a prey in the land of captivity: %%% Wulira, ai Katonda waffe; kubanga tunyoomeddwa: era zza ekivume kyabwe ku mutwe gwabwe bo, obagabule okunyagibwa mu nsi ey'obusibe: 16NEH004.005 And cover not their iniquity, and let not their sin be blotted out from before thee: for they have provoked thee to anger before the builders. %%% so tobikka ku butali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe kireme okusangulibwa mu maaso go: kubanga bakusunguwazizza mu maaso g'abazimbi. 16NEH004.006 So built we the wall; and all the wall was joined together unto the half thereof: for the people had a mind to work. %%% Awo ne tuzimba bbugwe; bbugwe yenna n'agattibwa wamu okutuusa we yenkana obugulumivu: kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu. 16NEH004.007 But it came to pass, that when Sanballat, and Tobiah, and the Arabians, and the Ammonites, and the Ashdodites, heard that the walls of Jerusalem were made up, and that the breaches began to be stopped, then they were very wroth, %%% Naye olwatuuka Sanubalaati ne Tobiya n'Abawalabu n'Abamoni n’Abasudodi bwe baawulira ng'omulimu ogw'okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera, era ng'ebituli bitanudde okuzibibwa, kale ne basunguwala nnyo; 16NEH004.008 And conspired all of them together to come and to fight against Jerusalem, and to hinder it. %%% ne beekobaana bonna wamu okujja okulwana ne Yerusaalemi n'okukisasamaza. 16NEH004.009 Nevertheless we made our prayer unto our God, and set a watch against them day and night, because of them. %%% Naye ne tusaba okusaba kwaffe eri Katonda waffe ne tussaawo abakuumi eri bo emisana n'ekiro ku lwabwe. 16NEH004.010 And Judah said, The strength of the bearers of burdens is decayed, and there is much rubbish; so that we are not able to build the wall. %%% Yuda n'ayogera nti Amaanyi g'abo abeetikka emigugu gaweddewo era waliwo ebisasiro bingi; n'okuyinza ne tutayinza kuzimba bbugwe. 16NEH004.011 And our adversaries said, They shall not know, neither see, till we come in the midst among them, and slay them, and cause the work to cease. %%% Abalabe baffe ne boogera nti Tebalimanya so tebaliraba, okutuusa lwe tuliyingira mu bo wakati, ne tubatta, ne tulekesaayo omulimu. 16NEH004.012 And it came to pass, that when the Jews which dwelt by them came, they said unto us ten times, From all places whence ye shall return unto us they will be upon you. %%% Awo olwatuuka Abayudaaya abaabaliraana bwe bajja, ne batugamba emirundi kkumi nga bayima mu bifo byonna nti Kibagwanira okudda gye tuli. 16NEH004.013 Therefore set I in the lower places behind the wall, and on the higher places, I even set the people after their families with their swords, their spears, and their bows. %%% Kyennava nzisaawo abantu mu njuyi eza wansi ez'omu bbanga eryali ennyuma wa bbugwe, mu mpungu, kyennava nzisaawo abantu ng'enda zaabwe bwe zaali nga balina ebitala byabwe n'amafumu gaabwe n'emitego gyabwe. 16NEH004.014 And I looked, and rose up, and said unto the nobles, and to the rulers, and to the rest of the people, Be not ye afraid of them: remember the LORD, which is great and terrible, and fight for your brethren, your sons, and your daughters, your wives, and your houses. %%% Ne ntunula ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu, n'abantu abalala nti Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe. 16NEH004.015 And it came to pass, when our enemies heard that it was known unto us, and God had brought their counsel to nought, that we returned all of us to the wall, every one unto his work. %%% Awo olwatuuka abalabe baffe bwe baawulira nga kimanyiddwa gye tuli, era nga Katonda asse okuteesa kwabwe, ne tulyoka tudda fenna ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe. 16NEH004.016 And it came to pass from that time forth, that the half of my servants wrought in the work, and the other half of them held both the spears, the shields, and the bows, and the habergeons; and the rulers were behind all the house of Judah. %%% Awo olwatuuka okuva mu biro ebyo n'okweyongerayo ekitundu ky'abaddu bange ne bakolanga omulimu ogwo n'ekitundu ne bakwatanga amafumu n'engabo n'emitego n'ebizibawo eby'ebyuma; abakulu ne babanga ennyuma w'ennyumba yonna eya Yuda. 16NEH004.017 They which builded on the wall, and they that bare burdens, with those that laded, every one with one of his hands wrought in the work, and with the other hand held a weapon. %%% Abo abaazimbanga bbugwe n'abo abeetikkanga emigugu ne beebinikanga, buli muntu ng'akola omulimu n'omukono gwe gumu, n'ogw'okubiri nga gukutte ekyekulwanyisa kye; 16NEH004.018 For the builders, every one had his sword girded by his side, and so builded. And he that sounded the trumpet was by me. %%% n'abazimbi, buli muntu ekitala kye nga kisibiddwa mu kiwato kye n'azimbanga bw'atyo. N'oyo eyafuuwanga ekkondeere n'abeeranga nange. 16NEH004.019 And I said unto the nobles, and to the rulers, and to the rest of the people, The work is great and large, and we are separated upon the wall, one far from another. %%% Ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti Omulimu munene mugazi, naffe twesudde amabanga ku bbugwe, omu ng'amuli wala munne: 16NEH004.020 In what place therefore ye hear the sound of the trumpet, resort ye thither unto us: our God shall fight for us. %%% mu buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly'ekkondeere, mutudduukiririranga eyo; Katonda waffe ye anaatulwaniriranga. 16NEH004.021 So we laboured in the work: and half of them held the spears from the rising of the morning till the stars appeared. %%% Awo ne tukolanga omulimu: ekitundu kyabwe ne bakwatanga amafumu obudde, we bwakeereranga n'emmunyeenye lwe zaalabikanga. 16NEH004.022 Likewise at the same time said I unto the people, Let every one with his servant lodge within Jerusalem, that in the night they may be a guard to us, and labour on the day. %%% Era mu biro ebyo ne ŋŋamba bwe ntyo abantu nti Buli muntu n'omuddu we asulenga mu Yerusaalemi babeerenga bakuumi gye tuli ekiro, era bakolenga omulimu emisana. 16NEH004.023 So neither I, nor my brethren, nor my servants, nor the men of the guard which followed me, none of us put off our clothes, saving that every one put them off for washing. %%% Awo ne tutayambulanga byambalo byaffe nze newakubadde baganda bange newakubadde abaddu bange newakubadde abasajja abambowa abangobereranga, n'omu ku ffe, buli muntu yagendanga emugga ng'akutte ekyokulwanyisa kye. 16NEH005.001 And there was a great cry of the people and of their wives against their brethren the Jews. %%% Awo ne wabaawo olukaayano olunene olw'abantu ne bakazi baabwe eri baganda baabwe Abayudaaya. 16NEH005.002 For there were that said, We, our sons, and our daughters, are many: therefore we take up corn for them, that we may eat, and live. %%% Kubanga waaliwo abaayogera nti Ffe, batabani baffe ne bawala baffe, tuli bangi: tufune eŋŋaano tulyenga tube abalamu. 16NEH005.003 Some also there were that said, We have mortgaged our lands, vineyards, and houses, that we might buy corn, because of the dearth. %%% Era ne wabaawo abaayogera nti Tusingawo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe: tufunenga eŋŋaano olw'enjala. 16NEH005.004 There were also that said, We have borrowed money for the king's tribute, and that upon our lands and vineyards. %%% Era ne wabaawo abaayogera nti Twewola effeeza ey'emusolo gwa kabaka nga tusinzeewo ennimiro zaffe n'ensuku ez'emizabbibu. 16NEH005.005 Yet now our flesh is as the flesh of our brethren, our children as their children: and, lo, we bring into bondage our sons and our daughters to be servants, and some of our daughters are brought unto bondage already: neither is it in our power to redeem them; for other men have our lands and vineyards. %%% Naye kaakano omubiri gwaffe guli ng'omubiri gwa baganda baffe, abaana baffe bali ng'abaana baabwe: era, laba, batabani baffe ne bawala baffe tubaleeta mu buddu okuba abaddu, era abamu ku bawala baffe bamaze okuleetebwa mu buddu: so tetuliiko kye tunaakola; kubanga ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu zirina balala. 16NEH005.006 And I was very angry when I heard their cry and these words. %%% Awo ne nsunguwala nnyo bwe nnawulira olukaayano lwabwe n'ebigambo bino. 16NEH005.007 Then I consulted with myself, and I rebuked the nobles, and the rulers, and said unto them, Ye exact usury, every one of his brother. And I set a great assembly against them. %%% Awo ne ndyoka nteesa nzekka ne nnyomba n'abakungu n'abakulu ne mbagamba nti Muweesa amagoba, buli muntu muganda we. Ne mbakuŋŋaanya okukuŋŋaana okunene. 16NEH005.008 And I said unto them, We after our ability have redeemed our brethren the Jews, which were sold unto the heathen; and will ye even sell your brethren? or shall they be sold unto us? Then held they their peace, and found nothing to answer. %%% Ne mbagamba nti ffe nga bwe twayinza twanunula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannaggwanga; nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, naffe twandiba guze? Awo ne basirika ne batalaba kigambo. 16NEH005.009 Also I said, It is not good that ye do: ought ye not to walk in the fear of our God because of the reproach of the heathen our enemies? %%% Era ne njogera nti Ekigambo kye mukola si kirungi: temwanditambulidde mu kutya Katonda waffe, olw'okuvuma kwa bannaggwanga abalabe baffe? 16NEH005.010 I likewise, and my brethren, and my servants, might exact of them money and corn: I pray you, let us leave off this usury. %%% Era nange bwe ntyo baganda n'abaddu bange mbawola effeeza n'eŋŋaano olw'amagoba. Mbeegayiridde, tuleke amagoba ago. 16NEH005.011 Restore, I pray you, to them, even this day, their lands, their vineyards, their oliveyards, and their houses, also the hundredth part of the money, and of the corn, the wine, and the oil, that ye exact of them. %%% Mbeegayiridde, mubaddize leero ennimiro zaabwe n'ensuku zaabwe ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni n'ennyumba zaabwe, era n'ekitundu eky'ekikumi ekya ffeeza n'eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta bye mubaweesa. 16NEH005.012 Then said they, We will restore them, and will require nothing of them; so will we do as thou sayest. Then I called the priests, and took an oath of them, that they should do according to this promise. %%% Awo ne boogera nti Tunaabizza, so tetulibasalira kintu; bwe tutyo bwe tunaakola nga bw'oyogera. Awo ne mpita bakabona ne mbalayiza nga banaakola nga bwe basuubizza. 16NEH005.013 Also I shook my lap, and said, So God shake out every man from his house, and from his labour, that performeth not this promise, even thus be he shaken out, and emptied. And all the congregation said, Amen, and praised the LORD. And the people did according to this promise. %%% Era ne nkunkumula olugoye olw'omu kifuba kyange ne njogera nti Katonda akunkumulire bw'atyo mu nnyumba ye ne mu mulimu gwe buli muntu atatuukiriza kusuubiza kuno; bw'atyo bw'aba akunkumulwa amalibwemu. Ekibiina kyonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama. Abantu ne bakola ng'okusuubiza kuno bwe kwali. 16NEH005.014 Moreover from the time that I was appointed to be their governor in the land of Judah, from the twentieth year even unto the two and thirtieth year of Artaxerxes the king, that is, twelve years, I and my brethren have not eaten the bread of the governor. %%% Era okuva mu biro lwe nnateekebwawo okuba omukulu waabwe mu nsi ya Yuda, okuva ku mwaka ogw'amakumi abiri okutuuka ku mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, gye myaka ekkumi n'ebiri, nze ne baganda bange tetulyanga ku mmere ey'omukulu. 16NEH005.015 But the former governors that had been before me were chargeable unto the people, and had taken of them bread and wine, beside forty shekels of silver; yea, even their servants bare rule over the people: but so did not I, because of the fear of God. %%% Naye abakulu ab'edda abansooka baasoloozanga abantu bye baalyanga ne babasaliranga emmere n'omwenge obutassaako sekeri eza ffeeza amakumi ana; weewaawo, n'abaddu baabwe baafuganga abantu: naye nze si bwe nnakolanga olw'okutya Katonda. 16NEH005.016 Yea, also I continued in the work of this wall, neither bought we any land: and all my servants were gathered thither unto the work. %%% Weewaawo, era nanyiikiranga okukola omulimu ogwa bbugwe ono, so tetwagula nsi yonna: n'abaddu bange bonna ne bakuŋŋaanira eyo eri omulimu. 16NEH005.017 Moreover there were at my table an hundred and fifty of the Jews and rulers, beside those that came unto us from among the heathen that are about us. %%% Era ku Bayudaaya n'abakulu, abasajja kikumi mu ataano baabanga ku mmeeza yange obutassaako abo abajja gye tuli nga bava mu bannaggwanga abatwetoolodde. 16NEH005.018 Now that which was prepared for me daily was one ox and six choice sheep; also fowls were prepared for me, and once in ten days store of all sorts of wine: yet for all this required not I the bread of the governor, because the bondage was heavy upon this people. %%% Era ebyafumbibwanga eby'olunaku olumu ente emu n'endiga ennonde mukaaga; era enkoko zanfumbirwanga, n'omulundi gumu buli nnaku kkumi omwenge ogw'engeri zonna: era naye newakubadde nga byali bwe bityo saabasalira mmere ya mukulu, kubanga obuddu bwabazitoowerera abantu bano. 16NEH005.019 Think upon me, my God, for good, according to all that I have done for this people. %%% Ai Katonda wange, jjukira gye ndi olw'obulungi byonna bye nkoledde abantu bano. 16NEH006.001 Now it came to pass, when Sanballat, and Tobiah, and Geshem the Arabian, and the rest of our enemies, heard that I had builded the wall, and that there was no breach left therein; (though at that time I had not set up the doors upon the gates;) %%% Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali kituli ekisigadde omwo; (newakubadde nga nali nga sinnasimba nzigi mu miryango mu biro ebyo;) 16NEH006.002 That Sanballat and Geshem sent unto me, saying, Come, let us meet together in some one of the villages in the plain of Ono. But they thought to do me mischief. %%% awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono. Naye nga baalowooza okunkola obubi. 16NEH006.003 And I sent messengers unto them, saying, I am doing a great work, so that I cannot come down: why should the work cease, whilst I leave it, and come down to you? %%% Ne mbatumira ababaka nga njogera nti Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kuserengeta: omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nserengeta gye muli? 16NEH006.004 Yet they sent unto me four times after this sort; and I answered them after the same manner. %%% Ne bantumira bwe batyo emirundi ena; ne mbaddamu bwe ntyo. 16NEH006.005 Then sent Sanballat his servant unto me in like manner the fifth time with an open letter in his hand; %%% Awo Sanubalaati n'antumira omuddu we bw'atyo omulundi ogw'okutaano ng'alina mu mukono gwe ebbaluwa etezingiddwa mu mukono gwe; 16NEH006.006 Wherein was written, It is reported among the heathen, and Gashmu saith it, that thou and the Jews think to rebel: for which cause thou buildest the wall, that thou mayest be their king, according to these words. %%% omwawandiikibwa nti Mu mawanga mulimu ebigambo era Gasimu akyogera nga ggwe n'Abayudaaya mwagala okujeema; kyova ozimba bbugwe: era oyagala okuba kabaka waabwe, ebigambo ebyo bwe byogera bwe bityo. 16NEH006.007 And thou hast also appointed prophets to preach of thee at Jerusalem, saying, There is a king in Judah: and now shall it be reported to the king according to these words. Come now therefore, and let us take counsel together. %%% Era otaddewo ne bannabbi ab'okubuulira ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti Mu Yuda mulimu kabaka: kale nno kabaka alibuulirwa ng'ebigambo ebyo bwe biri. Kale nno jjangu tuteese fembi. 16NEH006.008 Then I sent unto him, saying, There are no such things done as thou sayest, but thou feignest them out of thine own heart. %%% Awo ne mmutumira nga njogera nti Tewakolebwanga bigambo nga bw'otogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe. 16NEH006.009 For they all made us afraid, saying, Their hands shall be weakened from the work, that it be not done. Now therefore, O God, strengthen my hands. %%% Kubanga bonna banditutiisizza nga boogera nti Emikono gyabwe girifuuka minafu okuva ku mulimu guleme okukolebwa. Naye kaakano, ai Katonda, nyweza ggwe emikono gyange. 16NEH006.010 Afterward I came unto the house of Shemaiah the son of Delaiah the son of Mehetabeel, who was shut up; and he said, Let us meet together in the house of God, within the temple, and let us shut the doors of the temple: for they will come to slay thee; yea, in the night will they come to slay thee. %%% Awo ne nnyingira mu nnyunba ya Semaaya mutabani wa Deraaya mutabani wa Meketaberi eyasibibwa; n'ayogera nti Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda wa yeekaalu, era tuggalewo enzigi za yeekaalu: kubanga banajja okukutta; weewaawo, mu kiro mwe banajjira okukutta. 16NEH006.011 And I said, Should such a man as I flee? and who is there, that, being as I am, would go into the temple to save his life? I will not go in. %%% Ne njogera nti Omusajja eyenkana awo nga nze nandidduse? era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu yeekaalu okuwonya obulamu bwe? siiyingiremu. 16NEH006.012 And, lo, I perceived that God had not sent him; but that he pronounced this prophecy against me: for Tobiah and Sanballat had hired him. %%% Ne ntegeera, era, laba, Katonda teyamutuma: naye yandagulako obunnabbi buno: era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde. 16NEH006.013 Therefore was he hired, that I should be afraid, and do so, and sin, and that they might have matter for an evil report, that they might reproach me. %%% Kyeyava aguliririrwa ntye nkole bwe ntyo nnyonoone, babeeko kwe banaggya ensonga ey'ebigambo ebibi, banvume. 16NEH006.014 My God, think thou upon Tobiah and Sanballat according to these their works, and on the prophetess Noadiah, and the rest of the prophets, that would have put me in fear. %%% Ai Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalaati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe byali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abandintiisizza. 16NEH006.015 So the wall was finished in the twenty and fifth day of the month Elul, in fifty and two days. %%% Bwe kityo bbugwe n'aggwa okukola ku lunaku olw'amakumi abiri mu ttaano olw'omwezi Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu biri. 16NEH006.016 And it came to pass, that when all our enemies heard thereof, and all the heathen that were about us saw these things, they were much cast down in their own eyes: for they perceived that this work was wrought of our God. %%% Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannaggwanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweeramu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo: kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe. 16NEH006.017 Moreover in those days the nobles of Judah sent many letters unto Tobiah, and the letters of Tobiah came unto them. %%% Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya ebbaluwa nnyingi, ebbaluwa za Tobiya ne zijja gye bali. 16NEH006.018 For there were many in Judah sworn unto him, because he was the son in law of Shechaniah the son of Arah; and his son Johanan had taken the daughter of Meshullam the son of Berechiah. %%% Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abamulayirira kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya. 16NEH006.019 Also they reported his good deeds before me, and uttered my words to him. And Tobiah sent letters to put me in fear. %%% Era ne boogera ku bikolwa bye ebirungi mu maaso gange, ne bamubuulira ebigambo byange. Tobiya n'aweereza ebbaluwa okuntiisa. 16NEH007.001 Now it came to pass, when the wall was built, and I had set up the doors, and the porters and the singers and the Levites were appointed, %%% Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, n'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi nga balondeddwa, 16NEH007.002 That I gave my brother Hanani, and Hananiah the ruler of the palace, charge over Jerusalem: for he was a faithful man, and feared God above many. %%% awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi: kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi. 16NEH007.003 And I said unto them, Let not the gates of Jerusalem be opened until the sun be hot; and while they stand by, let them shut the doors, and bar them: and appoint watches of the inhabitants of Jerusalem, every one in his watch, and every one to be over against his house. %%% Ne mbagamba nti Enzigi za Yerusaalemi teziggalwangawa ng'omusana tegunnakangaalukuka; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba: era mussengawo abakuumi ku abo abali mu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, era buli muntu ng'ayolekera ennyumba ye. 16NEH007.004 Now the city was large and great: but the people were few therein, and the houses were not builded. %%% Era ekibuga kyali kigazi era kinene: naye abantu abaali omwo baali batono, n'ennyumba nga tezizimbiddwa. 16NEH007.005 And my God put into mine heart to gather together the nobles, and the rulers, and the people, that they might be reckoned by genealogy. And I found a register of the genealogy of them which came up at the first, and found written therein, %%% Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne ndaba ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okwambuka, ne ndaba, nga kiwandiikiddwamu nti 16NEH007.006 These are the children of the province, that went up out of the captivity, of those that had been carried away, whom Nebuchadnezzar the king of Babylon had carried away, and came again to Jerusalem and to Judah, every one unto his city; %%% Bano be baana b'essaza abaayambuka okuva mu bunyage bw'abo abaatwaiibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe; 16NEH007.007 Who came with Zerubbabel, Jeshua, Nehemiah, Azariah, Raamiah, Nahamani, Mordecai, Bilshan, Mispereth, Bigvai, Nehum, Baanah. The number, I say, of the men of the people of Israel was this; %%% abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Azaliya, Laamiya, Nakamani, Moluddekaayi, Birusani, Misuperesi, Biguvayi, Nekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja ab'oku bantu ba Isiraeri: 16NEH007.008 The children of Parosh, two thousand an hundred seventy and two. %%% abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. 16NEH007.009 The children of Shephatiah, three hundred seventy and two. %%% Abaana ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri. 16NEH007.010 The children of Arah, six hundred fifty and two. %%% Abaana ba Ala, lukaaga mu ataano mu babiri. 16NEH007.011 The children of Pahathmoab, of the children of Jeshua and Joab, two thousand and eight hundred and eighteen. %%% Abaana ba Pakasumowaabu, ow'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi mu munaana 16NEH007.012 The children of Elam, a thousand two hundred fifty and four. %%% Abaana ba Eramu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. 16NEH007.013 The children of Zattu, eight hundred forty and five. %%% Abaana ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano. 16NEH007.014 The children of Zaccai, seven hundred and threescore. %%% Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga. 16NEH007.015 The children of Binnui, six hundred forty and eight. %%% Abaana ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana. 16NEH007.016 The children of Bebai, six hundred twenty and eight. %%% Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana. 16NEH007.017 The children of Azgad, two thousand three hundred twenty and two. %%% Abaana ba Azugaadi, enkumi bbiri mu ebikumi bisatu mu abiri mu babiri. 16NEH007.018 The children of Adonikam, six hundred threescore and seven. %%% Abaana ba Adotukamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu. 16NEH007.019 The children of Bigvai, two thousand threescore and seven. %%% Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu. 16NEH007.020 The children of Adin, six hundred fifty and five. %%% Abaana ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano. 16NEH007.021 The children of Ater of Hezekiah, ninety and eight. %%% Abaana ba Ateri, owa Keezeekiya, kyenda mu munaana. 16NEH007.022 The children of Hashum, three hundred twenty and eight. %%% Abaana ba Kasumu, ebikumi bisatu mu abiri mu munaana. 16NEH007.023 The children of Bezai, three hundred twenty and four. %%% Abaana ba Bezayi, ebikumi bisatu mu abiri mu bana. 16NEH007.024 The children of Hariph, an hundred and twelve. %%% Abaana ba Kalifu, kikumi mu kkumi mu babiri. 16NEH007.025 The children of Gibeon, ninety and five. %%% Abaana ba Gibyoni, kyenda mu bataano. 16NEH007.026 The men of Bethlehem and Netophah, an hundred fourscore and eight. %%% Abasajja ab'e Besirekemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana. 16NEH007.027 The men of Anathoth, an hundred twenty and eight. %%% Abasajja ab'e Anasosi; kikumi mu abiri mu munaana. 16NEH007.028 The men of Bethazmaveth, forty and two. %%% Abasajja ab'e Besuwazumavesi, amakumi ana mu babiri. 16NEH007.029 The men of Kirjathjearim, Chephirah, and Beeroth, seven hundred forty and three. %%% Abasajja ab'e Kiriyasuyalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu. 16NEH007.030 The men of Ramah and Gaba, six hundred twenty and one. %%% Abasajja ab'e Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu. 16NEH007.031 The men of Michmas, an hundred and twenty and two. %%% Abasajja ab'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri. 16NEH007.032 The men of Bethel and Ai, an hundred twenty and three. %%% Abasajja ab'e Beseri ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu. 16NEH007.033 The men of the other Nebo, fifty and two. %%% Abasajja ab'e Nebo eky'okubiri, amakumi ataano mu babiri. 16NEH007.034 The children of the other Elam, a thousand two hundred fifty and four. %%% Abaana ba Eramu ow'okubiri, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. 16NEH007.035 The children of Harim, three hundred and twenty. %%% Abaana ba Kalimu, ebikumi bisatu mu abiri. 16NEH007.036 The children of Jericho, three hundred forty and five. %%% Abaana ba Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano. 16NEH007.037 The children of Lod, Hadid, and Ono, seven hundred twenty and one. %%% Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu. 16NEH007.038 The children of Senaah, three thousand nine hundred and thirty. %%% Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu. 16NEH007.039 The priests: the children of Jedaiah, of the house of Jeshua, nine hundred seventy and three. %%% Bakabona: abaana ba Yedaya, ow'oku nnyumba ya Yesuwa; lwenda mu nsanvu mu basatu. 16NEH007.040 The children of Immer, a thousand fifty and two. %%% Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri. 16NEH007.041 The children of Pashur, a thousand two hundred forty and seven. %%% Abaana ba Pasukuli, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu. 16NEH007.042 The children of Harim, a thousand and seventeen. %%% Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi mu musanvu. 16NEH007.043 The Levites: the children of Jeshua, of Kadmiel, and of the children of Hodevah, seventy and four. %%% Abaleevi: abaana ba Yesuva ow'e Kadumyeri, ow'oku baana ba Kodeva, nsanvu mu bana. 16NEH007.044 The singers: the children of Asaph, an hundred forty and eight. %%% Abayimbi: abaana ba Asafu, kakumi mu ana mu munaana 16NEH007.045 The porters: the children of Shallum, the children of Ater, the children of Talmon, the children of Akkub, the children of Hatita, the children of Shobai, an hundred thirty and eight. %%% Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana. 16NEH007.046 The Nethinims: the children of Ziha, the children of Hashupha, the children of Tabbaoth, %%% Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi; 16NEH007.047 The children of Keros, the children of Sia, the children of Padon, %%% abaana ba Keriso, abaana ba Siya, abaana ba Padoni; 16NEH007.048 The children of Lebana, the children of Hagaba, the children of Shalmai, %%% abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi; 16NEH007.049 The children of Hanan, the children of Giddel, the children of Gahar, %%% abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gakali; 16NEH007.050 The children of Reaiah, the children of Rezin, the children of Nekoda, %%% abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda; 16NEH007.051 The children of Gazzam, the children of Uzza, the children of Phaseah, %%% abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya; 16NEH007.052 The children of Besai, the children of Meunim, the children of Nephishesim, %%% abaana ba Besayi abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefusesimu; 16NEH007.053 The children of Bakbuk, the children of Hakupha, the children of Harhur, %%% abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli; 16NEH007.054 The children of Bazlith, the children of Mehida, the children of Harsha, %%% abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa; 16NEH007.055 The children of Barkos, the children of Sisera, the children of Tamah, %%% abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema; 16NEH007.056 The children of Neziah, the children of Hatipha. %%% abaana ba Neziya, abaana ba Katifa. 16NEH007.057 The children of Solomon's servants: the children of Sotai, the children of Sophereth, the children of Perida, %%% Abaana b'abaddu ba Sulemaani; abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida; 16NEH007.058 The children of Jaala, the children of Darkon, the children of Giddel, %%% abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi; 16NEH007.059 The children of Shephatiah, the children of Hattil, the children of Pochereth of Zebaim, the children of Amon. %%% abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Amoni. 16NEH007.060 All the Nethinims, and the children of Solomon's servants, were three hundred ninety and two. %%% Abanesinimu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri. 16NEH007.061 And these were they which went up also from Telmelah, Telharesha, Cherub, Addon, and Immer: but they could not shew their father's house, nor their seed, whether they were of Israel. %%% Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddoni, ne Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: 16NEH007.062 The children of Delaiah, the children of Tobiah, the children of Nekoda, six hundred forty and two. %%% abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri. 16NEH007.063 And of the priests: the children of Habaiah, the children of Koz, the children of Barzillai, which took one of the daughters of Barzillai the Gileadite to wife, and was called after their name. %%% Ne ku bakabona: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya lyabwe. 16NEH007.064 These sought their register among those that were reckoned by genealogy, but it was not found: therefore were they, as polluted, put from the priesthood. %%% Abo ne banoonya okuwandiikibwa kwabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne kutalabika: kyebaava babawoola ne babagoba mu bwakabona. 16NEH007.065 And the Tirshatha said unto them, that they should not eat of the most holy things, till there stood up a priest with Urim and Thummim. %%% Tirusaasa n'abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw'aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu. 16NEH007.066 The whole congregation together was forty and two thousand three hundred and threescore, %%% Ekibiina kyonna wamu yali obukumi buna mu enkumi bbiri mu bikumi bisatu mu nkaaga, 16NEH007.067 Beside their manservants and their maidservants, of whom there were seven thousand three hundred thirty and seven: and they had two hundred forty and five singing men and singing women. %%% obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe asanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano. 16NEH007.068 Their horses, seven hundred thirty and six: their mules, two hundred forty and five: %%% Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe ebikumi bibiri mu ana mu ttaano; 16NEH007.069 Their camels, four hundred thirty and five: six thousand seven hundred and twenty asses. %%% eŋŋamira zaabwe ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri. 16NEH007.070 And some of the chief of the fathers gave unto the work. The Tirshatha gave to the treasure a thousand drams of gold, fifty basons, five hundred and thirty priests' garments. %%% Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eri omulimu. Tirusaasa n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi, ebibya amakumi ataano, ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu. 16NEH007.071 And some of the chief of the fathers gave to the treasure of the work twenty thousand drams of gold, and two thousand and two hundred pound of silver. %%% Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu obukumi bubiri, ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bikumi bibiri. 16NEH007.072 And that which the rest of the people gave was twenty thousand drams of gold, and two thousand pound of silver, and threescore and seven priests' garments. %%% N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki ezaabu obukumi bubiri ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri, n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu. 16NEH007.073 So the priests, and the Levites, and the porters, and the singers, and some of the people, and the Nethinims, and all Israel, dwelt in their cities; and when the seventh month came, the children of Israel were in their cities. %%% Awo bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'abamu ku bantu n'Abanesinimu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu Bibuga byabwe. Awo omwezi gw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga byabwe. 16NEH008.001 And all the people gathered themselves together as one man into the street that was before the water gate; and they spake unto Ezra the scribe to bring the book of the law of Moses, which the LORD had commanded to Israel. %%% Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango gw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge yalagira Isiraeri. 16NEH008.002 And Ezra the priest brought the law before the congregation both of men and women, and all that could hear with understanding, upon the first day of the seventh month. %%% Ezera kabona n’aleeta amateeka mu maaso g'ekibiina, abasajja era n'abakazi ne bonna abaayinza okuwulira n'okutegeera, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu. 16NEH008.003 And he read therein before the street that was before the water gate from the morning until midday, before the men and the women, and those that could understand; and the ears of all the people were attentive unto the book of the law. %%% Awo n'asoma omwo mu maaso g’ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya ku makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abo abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka. 16NEH008.004 And Ezra the scribe stood upon a pulpit of wood, which they had made for the purpose; and beside him stood Mattithiah, and Shema, and Anaiah, and Urijah, and Hilkiah, and Maaseiah, on his right hand; and on his left hand, Pedaiah, and Mishael, and Malchiah, and Hashum, and Hashbadana, Zechariah, and Meshullam. %%% Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya ne Sema ne Anaya ne Uliya ne Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono Pedaya ne Misayeri ne Malukiya ne Kasumu ne Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu. 16NEH008.005 And Ezra opened the book in the sight of all the people; (for he was above all the people;) and when he opened it, all the people stood up: %%% Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; (kubanga yali waggulu w'abantu bonna;) kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira: 16NEH008.006 And Ezra blessed the LORD, the great God. And all the people answered, Amen, Amen, with lifting up their hands: and they bowed their heads, and worshipped the LORD with their faces to the ground. %%% Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe: ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe. 16NEH008.007 Also Jeshua, and Bani, and Sherebiah, Jamin, Akkub, Shabbethai, Hodijah, Maaseiah, Kelita, Azariah, Jozabad, Hanan, Pelaiah, and the Levites, caused the people to understand the law: and the people stood in their place. %%% Era Yesuwa ne Baani ne Serebiya ne Yamini ne Akkubu ne Sabbesayi ne Kodiya ne Masseya ne Kerita ne Azaliya ne Yozabadi ne Kanani ne Peraya n'Abaleevi ne bategeeza abantu amateeka: abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe. 16NEH008.008 So they read in the book in the law of God distinctly, and gave the sense, and caused them to understand the reading. %%% Ne basoma mu kitabo mu mateeka ga Katonda okuwulikika; ne baleeta amakulu n'okutegeera ne bategeera ebyasomebwa. 16NEH008.009 And Nehemiah, which is the Tirshatha, and Ezra the priest the scribe, and the Levites that taught the people, said unto all the people, This day is holy unto the LORD your God; mourn not, nor weep. For all the people wept, when they heard the words of the law. %%% Awo Nekkemiya Tirusaasa ne Ezera kabona omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga. Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka. 16NEH008.010 Then he said unto them, Go your way, eat the fat, and drink the sweet, and send portions unto them for whom nothing is prepared: for this day is holy unto our LORD: neither be ye sorry; for the joy of the LORD is your strength. %%% Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe. 16NEH008.011 So the Levites stilled all the people, saying, Hold your peace, for the day is holy; neither be ye grieved. %%% Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera, nti Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala. 16NEH008.012 And all the people went their way to eat, and to drink, and to send portions, and to make great mirth, because they had understood the words that were declared unto them. %%% Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'akunywa n'okuwereeza emigabo n'okusanyuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa. 16NEH008.013 And on the second day were gathered together the chief of the fathers of all the people, the priests, and the Levites, unto Ezra the scribe, even to understand the words of the law. %%% Awo ku lunaku olw'okubiri ne wakuŋŋaana emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abantu bonna, bakabona n'Abaleevi, awali Ezera omuwandiisi, okutega amatu eri ebigambo eby'amateeka. 16NEH008.014 And they found written in the law which the LORD had commanded by Moses, that the children of Israel should dwell in booths in the feast of the seventh month: %%% Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama bwe yalagirira mu Musa, abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu: 16NEH008.015 And that they should publish and proclaim in all their cities, and in Jerusalem, saying, Go forth unto the mount, and fetch olive branches, and pine branches, and myrtle branches, and palm branches, and branches of thick trees, to make booths, as it is written. %%% bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa. 16NEH008.016 So the people went forth, and brought them, and made themselves booths, every one upon the roof of his house, and in their courts, and in the courts of the house of God, and in the street of the water gate, and in the street of the gate of Ephraim. %%% Awo abantu ne bafuluma ne bagaleeta ne beekolera ensiisira, buli muntu waggulu ku nnyumba ye ne mu mpya zaabwe ne mu mpya z'ennyumba ya Katonda ne mu kifo ekigazi eky'oku mulyango ogw'amazzi ne mu kifo ekigazi eky'okumulyango gwa Efulayimu. 16NEH008.017 And all the congregation of them that were come again out of the captivity made booths, and sat under the booths: for since the days of Jeshua the son of Nun unto that day had not the children of Israel done so. And there was very great gladness. %%% Awo ekibiina kyonna eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira: kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe batyo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo. 16NEH008.018 Also day by day, from the first day unto the last day, he read in the book of the law of God. And they kept the feast seven days; and on the eighth day was a solemn assembly, according unto the manner. %%% Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olw'olubereberye n'amalira ku lunaku olw'enkomerero n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri. 16NEH009.001 Now in the twenty and fourth day of this month the children of Israel were assembled with fasting, and with sackclothes, and earth upon them. %%% Awo ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi guno abaana ba Isirieri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka. 16NEH009.002 And the seed of Israel separated themselves from all strangers, and stood and confessed their sins, and the iniquities of their fathers. %%% Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula mu bannaggwanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe. 16NEH009.003 And they stood up in their place, and read in the book of the law of the LORD their God one fourth part of the day; and another fourth part they confessed, and worshipped the LORD their God. %%% Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe ne bamala ekitundu ky'olunaku eky'okuna; n'ekitundu eky'okuna ekirala ne baatula, ne basinza Mukama Katonda waabwe. 16NEH009.004 Then stood up upon the stairs, of the Levites, Jeshua, and Bani, Kadmiel, Shebaniah, Bunni, Sherebiah, Bani, and Chenani, and cried with a loud voice unto the LORD their God. %%% Awo ne wayimirira ku madaala g'Abaleevi Yesuwa ne Baani ne Kadumyeri ne Sebaniya ne Bunni ne Serebiya ne Baani ne Kenani, ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene. 16NEH009.005 Then the Levites, Jeshua, and Kadmiel, Bani, Hashabniah, Sherebiah, Hodijah, Shebaniah, and Pethahiah, said, Stand up and bless the LORD your God for ever and ever: and blessed be thy glorious name, which is exalted above all blessing and praise. %%% Awo Abaleevi, Yesuwa ne Kadumyeri ne Baani ne Kasabuneya ne Serebiya ne Kodiya ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna: era erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza. 16NEH009.006 Thou, even thou, art LORD alone; thou hast made heaven, the heaven of heavens, with all their host, the earth, and all things that are therein, the seas, and all that is therein, and thou preservest them all; and the host of heaven worshippeth thee. %%% Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n'eggye lyalyo lyonna, ensi n'ebintu byonna ebiri okwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n'eggye ery'omu ggulu likusinza. 16NEH009.007 Thou art the LORD the God, who didst choose Abram, and broughtest him forth out of Ur of the Chaldees, and gavest him the name of Abraham; %%% Ggwe Mukama Katonda yennyini, eyalonda Ibulayimu n'omuggya mu Uli ey'Abakaludaaya, n'omuwa erinnya Ibulayimu; 16NEH009.008 And foundest his heart faithful before thee, and madest a covenant with him to give the land of the Canaanites, the Hittites, the Amorites, and the Perizzites, and the Jebusites, and the Girgashites, to give it, I say, to his seed, and hast performed thy words; for thou art righteous: %%% n'olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n'olagaana naye endagaano okuwa ensi ey'Omukanani n'Omukiiti n'Omwamoli n'Omuperizi n'Omuyebusi n'Omugirugaasi, okugiwa ezzadde lye, era otuukirizza ebigambo byo kubanga ggwe mutuukirivu. 16NEH009.009 And didst see the affliction of our fathers in Egypt, and heardest their cry by the Red sea; %%% Era walaba okubonaabona kwa bajjajjaaffe mu Misiri n'owulira okukaaba kwabwe ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu; 16NEH009.010 And shewedst signs and wonders upon Pharaoh, and on all his servants, and on all the people of his land: for thou knewest that they dealt proudly against them. So didst thou get thee a name, as it is this day. %%% n'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero. 16NEH009.011 And thou didst divide the sea before them, so that they went through the midst of the sea on the dry land; and their persecutors thou threwest into the deeps, as a stone into the mighty waters. %%% Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi. 16NEH009.012 Moreover thou leddest them in the day by a cloudy pillar; and in the night by a pillar of fire, to give them light in the way wherein they should go. %%% Era nate n'obaluŋŋamya ng'oyima mu mpagi ey'ekire emisana; era ng'oyima mu mpagi ey'omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu. 16NEH009.013 Thou camest down also upon mount Sinai, and spakest with them from heaven, and gavest them right judgments, and true laws, good statutes and commandments: %%% Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu; n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag’amazima, ebyakuutirwa ebirungi n'ebiragiro: 16NEH009.014 And madest known unto them thy holy sabbath, and commandedst them precepts, statutes, and laws, by the hand of Moses thy servant: %%% n'obamanyisa ssabbiiti yo entukuvu, n'obalagira ebiragiro n'amateeka ne tawuleeti mu mukono gwa Musa omuddu wo: 16NEH009.015 And gavest them bread from heaven for their hunger, and broughtest forth water for them out of the rock for their thirst, and promisedst them that they should go in to possess the land which thou hadst sworn to give them. %%% n'obawanga emmere eyava mu ggulu olw'enjala yaabwe, n'obaggira amazzi mu lwazi olw'ennyonta yaabwe, n'obalagira bayingire okulya ensi gye wayimusiza omukono gwo okubawa. 16NEH009.016 But they and our fathers dealt proudly, and hardened their necks, and hearkened not to thy commandments, %%% Naye bo ne bajjajjaaffe ne bakola eby'amalala, ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne batawulira biragiro byo, 16NEH009.017 And refused to obey, neither were mindful of thy wonders that thou didst among them; but hardened their necks, and in their rebellion appointed a captain to return to their bondage: but thou art a God ready to pardon, gracious and merciful, slow to anger, and of great kindness, and forsookest them not. %%% ne bagaana okugonda so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bassaawo omwami nga bajeemye okuddayo mu buddu bwabwe: naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka. 16NEH009.018 Yea, when they had made them a molten calf, and said, This is thy God that brought thee up out of Egypt, and had wrought great provocations; %%% Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri, era nga bakoze ebinyiiza ennyo; 16NEH009.019 Yet thou in thy manifold mercies forsookest them not in the wilderness: the pillar of the cloud departed not from them by day, to lead them in the way; neither the pillar of fire by night, to shew them light, and the way wherein they should go. %%% naye ggwe olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobaleka mu ddungu: empagi ey'ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza n'okubalaga ekkubo lye baba bayitamu. 16NEH009.020 Thou gavest also thy good spirit to instruct them, and withheldest not thy manna from their mouth, and gavest them water for their thirst. %%% Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu yo mu kamwa kaabwe, n'obawa amazzi olw'ennyonta yaabwe. 16NEH009.021 Yea, forty years didst thou sustain them in the wilderness, so that they lacked nothing; their clothes waxed not old, and their feet swelled not. %%% Weewaawo, wabaliisiza emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n'ebigere byabwe tebyazimbanga. 16NEH009.022 Moreover thou gavest them kingdoms and nations, and didst divide them into corners: so they possessed the land of Sihon, and the land of the king of Heshbon, and the land of Og king of Bashan. %%% Era wabawa obwakabaka n'amawanga ge wagaba ng'emigabo gyabwe bwe gyali: kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w’e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. 16NEH009.023 Their children also multipliedst thou as the stars of heaven, and broughtest them into the land, concerning which thou hadst promised to their fathers, that they should go in to possess it. %%% Era n'abaana baabwe wabaaza ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya. 16NEH009.024 So the children went in and possessed the land, and thou subduedst before them the inhabitants of the land, the Canaanites, and gavest them into their hands, with their kings, and the people of the land, that they might do with them as they would. %%% Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala. 16NEH009.025 And they took strong cities, and a fat land, and possessed houses full of all goods, wells digged, vineyards, and oliveyards, and fruit trees in abundance: so they did eat, and were filled, and became fat, and delighted themselves in thy great goodness. %%% Ne bamenya ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne balya ennyumba ezajjula ebirungi byonna, ebidiba ebyabajjibwa, ensuku ez'e emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo: awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi. 16NEH009.026 Nevertheless they were disobedient, and rebelled against thee, and cast thy law behind their backs, and slew thy prophets which testified against them to turn them to thee, and they wrought great provocations. %%% Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go ennyuma w'amabega gaabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy'oli, ne bakolanga ebinyiiza ennyo. 16NEH009.027 Therefore thou deliveredst them into the hand of their enemies, who vexed them: and in the time of their trouble, when they cried unto thee, thou heardest them from heaven; and according to thy manifold mercies thou gavest them saviours, who saved them out of the hand of their enemies. %%% Kyewava obagabulanga mu mukono gw'abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga: kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n'obawuliranga ng'oyima mu ggulu; era ng'okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n'obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe. 16NEH009.028 But after they had rest, they did evil again before thee: therefore leftest thou them in the hand of their enemies, so that they had the dominion over them: yet when they returned, and cried unto thee, thou heardest them from heaven; and many times didst thou deliver them according to thy mercies; %%% Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go: kyewava obalekanga mu mukono gw'abalabe baabwe n'okufuga ne babafuga: naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n'owulira, ng'oyima mu ggulu; n'obawonyanga emirundi mingi ng'okusaasira kwo bwe kwali; 16NEH009.029 And testifiedst against them, that thou mightest bring them again unto thy law: yet they dealt proudly, and hearkened not unto thy commandments, but sinned against thy judgments, (which if a man do, he shall live in them;) and withdrew the shoulder, and hardened their neck, and would not hear. %%% n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go: naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, (egyo omuntu bw'agikola, anaabanga mulamu mu gyo,) ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira. 16NEH009.030 Yet many years didst thou forbear them, and testifiedst against them by thy spirit in thy prophets: yet would they not give ear: therefore gavest thou them into the hand of the people of the lands. %%% Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kyewava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omunsi. 16NEH009.031 Nevertheless for thy great mercies' sake thou didst not utterly consume them, nor forsake them; for thou art a gracious and merciful God. %%% Naye olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow'okusaasira. 16NEH009.032 Now therefore, our God, the great, the mighty, and the terrible God, who keepest covenant and mercy, let not all the trouble seem little before thee, that hath come upon us, on our kings, on our princes, and on our priests, and on our prophets, and on our fathers, and on all thy people, since the time of the kings of Assyria unto this day. %%% Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati. 16NEH009.033 Howbeit thou art just in all that is brought upon us; for thou hast done right, but we have done wickedly: %%% Naye ggwe mutuukirivu mu byonna ebyatubangako kubanga wakolanga eby'amazima, naye ffetwakolanga obubi: 16NEH009.034 Neither have our kings, our princes, our priests, nor our fathers, kept thy law, nor hearkened unto thy commandments and thy testimonies, wherewith thou didst testify against them. %%% so ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo n'emisango gyo bye wategeeza eri bo. 16NEH009.035 For they have not served thee in their kingdom, and in thy great goodness that thou gavest them, and in the large and fat land which thou gavest before them, neither turned they from their wicked works. %%% Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebibi. 16NEH009.036 Behold, we are servants this day, and for the land that thou gavest unto our fathers to eat the fruit thereof and the good thereof, behold, we are servants in it: %%% Laba, tuli baddu leero, n'ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo. 16NEH009.037 And it yieldeth much increase unto the kings whom thou hast set over us because of our sins: also they have dominion over our bodies, and over our cattle, at their pleasure, and we are in great distress. %%% Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe: era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi. 16NEH009.038 And because of all this we make a sure covenant, and write it; and our princes, Levites, and priests, seal unto it. %%% Era naye ebyo byonna newakubadde nga bibaddewo tulagaana endagaano ey'enkalakkalira, ne tugiwandiika; abakungu baffe n'Abaleevi baffe ne bakabona baffe ne bagissaako akabonero. 16NEH010.001 Now those that sealed were, Nehemiah, the Tirshatha, the son of Hachaliah, and Zidkijah, %%% Era abo abassaako akabonero be bano, Nekkemiya Tirusaasa, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya; 16NEH010.002 Seraiah, Azariah, Jeremiah, %%% Seraya, ne Azaliya ne Yeremiya; 16NEH010.003 Pashur, Amariah, Malchijah, %%% ne Pasukuli ne Amaliya ne Malukiya; 16NEH010.004 Hattush, Shebaniah, Malluch, %%% ne Kattusi ne Sebaniya ne Malluki; 16NEH010.005 Harim, Meremoth, Obadiah, %%% ne Kalimu ne Meremoosi ne Obadiya; 16NEH010.006 Daniel, Ginnethon, Baruch, %%% ne Danyeri ne Ginnesoni ne Baluki; 16NEH010.007 Meshullam, Abijah, Mijamin, %%% ne Messulamu ne Abiya ne Miyamini; 16NEH010.008 Maaziah, Bilgai, Shemaiah: these were the priests. %%% ne Maaziya ne Birugayi ne Semaaya: abo be baali bakabona. 16NEH010.009 And the Levites: both Jeshua the son of Azaniah, Binnui of the sons of Henadad, Kadmiel; %%% N'Abaleevi amannya gaabwe, Yesuwa mutabani wa Azaniya ne Binnuyi ow'oku baana ba Kenadadi ne Kadumyeri; 16NEH010.010 And their brethren, Shebaniah, Hodijah, Kelita, Pelaiah, Hanan, %%% ne baganda baabwe, Sebaniya ne Kodiya ne Kerita ne Peraya ne Kanani; 16NEH010.011 Micha, Rehob, Hashabiah, %%% ne Mikka ne Lekobu ne Kasabiya;, 16NEH010.012 Zaccur, Sherebiah, Shebaniah, %%% ne Zakkuli ne Serebiya ne Sebaniya; 16NEH010.013 Hodijah, Bani, Beninu. %%% ne Kodiya ne Baani ne Beninu. 16NEH010.014 The chief of the people; Parosh, Pahathmoab, Elam, Zatthu, Bani, %%% Abakulu b'abantu: Palosi ne Pakasumowaabu ne Eramu ne Zattu ne Baani; 16NEH010.015 Bunni, Azgad, Bebai, %%% ne Bunni ne Azugaadi ne Babayi; 16NEH010.016 Adonijah, Bigvai, Adin, %%% ne Adoniya ne Biguvayi ne Adini; 16NEH010.017 Ater, Hizkijah, Azzur, %%% ne Atera ne Keezeekiya ne Azzuli; 16NEH010.018 Hodijah, Hashum, Bezai, %%% ne Kodiya ne Kasumu ne Bezayi; 16NEH010.019 Hariph, Anathoth, Nebai, %%% ne Kalifu ne Anasosi ne Nobayi; 16NEH010.020 Magpiash, Meshullam, Hezir, %%% ne Magupiyasi ne Mesullamu ne Keziri; 16NEH010.021 Meshezabeel, Zadok, Jaddua, %%% ne Mesezaberi ne Zadoki ne Yadduwa; 16NEH010.022 Pelatiah, Hanan, Anaiah, %%% ne Peratiya ne Kanani ne Anaya; 16NEH010.023 Hoshea, Hananiah, Hashub, %%% ne Koseya ne Kananiya ne Kassubu; 16NEH010.024 Hallohesh, Pileha, Shobek, %%% ne Kallokesi ne Piruka ne Sobeki; 16NEH010.025 Rehum, Hashabnah, Maaseiah, %%% ne Lekumu ne Kasabuna ne Maaseya; 16NEH010.026 And Ahijah, Hanan, Anan, %%% ne Akiya ne Kanani ne Anani; 16NEH010.027 Malluch, Harim, Baanah. %%% ne Malluki ne Kallimu ne Baana. 16NEH010.028 And the rest of the people, the priests, the Levites, the porters, the singers, the Nethinims, and all they that had separated themselves from the people of the lands unto the law of God, their wives, their sons, and their daughters, every one having knowledge, and having understanding; %%% N'abantu abalala bonna, bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'Abanesinimu n'abo bonna abeeyawula mu mawanga ag'omu nsi eri amateeka ga Katonda, bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, buli muntu eyalina okumanya n'okutegeera; 16NEH010.029 They clave to their brethren, their nobles, and entered into a curse, and into an oath, to walk in God's law, which was given by Moses the servant of God, and to observe and do all the commandments of the LORD our Lord, and his judgments and his statutes; %%% ne beegatta ne baganda baabwe, abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n'ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda agaaweerwa mu Musa omuddu wa Katonda, n'okukwatanga n'okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Mukama waffe, n'emisango gye n'amateeka ge; 16NEH010.030 And that we would not give our daughters unto the people of the land, nor take their daughters for our sons: %%% era tulemenga okuwa bawala baffe amawanga ag'omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani baffe bawala baabwe; 16NEH010.031 And if the people of the land bring ware or any victuals on the sabbath day to sell, that we would not buy it of them on the sabbath, or on the holy day: and that we would leave the seventh year, and the exaction of every debt. %%% era amawanga ag'omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba ebyokulya byonna okutundira ku lunaku olwa ssabbiiti, obutagulaaniranga nabo ku ssabbiiti newakubadde ku lunaku olutukuvu: era nga tunaalekanga omwaka ogw'omusanvu, n'okubanjanga ebbanja lyonna. 16NEH010.032 Also we made ordinances for us, to charge ourselves yearly with the third part of a shekel for the service of the house of our God; %%% Era ne tweteekerawo amateeka okwesaliranga buli mwaka ekitundu eky'okusatu ekya sekeri olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda waffe; 16NEH010.033 For the shewbread, and for the continual meat offering, and for the continual burnt offering, of the sabbaths, of the new moons, for the set feasts, and for the holy things, and for the sin offerings to make an atonement for Israel, and for all the work of the house of our God. %%% olw'emigaati egy'okulaga n'olw'ekiweebwayo eky'obutta ekitaggwaawo n'olw'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaggwaawo, eby'oku ssabbiiti n'eby'oku myezi egyakaboneka, n'olw'embaga egyateekebwawo, n'olw'ebintu ebitukuvu n'olw'ebiweebwayo olw'ekibi okutangirira Isiraeri, n'olw'emirimu gyonna egy'omu nnyumba ya Katonda waffe. 16NEH010.034 And we cast the lots among the priests, the Levites, and the people, for the wood offering, to bring it into the house of our God, after the houses of our fathers, at times appointed year by year, to burn upon the altar of the LORD our God, as it is written in the law: %%% Ne tukuba obululu, bakabona n'Abaleevi n'abantu, olw'ekiweebwayo eky'enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng'ennyumba za bakitaffe bwe zaali mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka: 16NEH010.035 And to bring the firstfruits of our ground, and the firstfruits of all fruit of all trees, year by year, unto the house of the LORD: %%% n'okuleetanga ebibala ebibereberye eby'ettaka lyaffe, n'ebibereberye eby'ebibala byonna eby'oku miti egy'engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama: 16NEH010.036 Also the firstborn of our sons, and of our cattle, as it is written in the law, and the firstlings of our herds and of our flocks, to bring to the house of our God, unto the priests that minister in the house of our God: %%% era n'ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n'ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okuleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe: 16NEH010.037 And that we should bring the firstfruits of our dough, and our offerings, and the fruit of all manner of trees, of wine and of oil, unto the priests, to the chambers of the house of our God; and the tithes of our ground unto the Levites, that the same Levites might have the tithes in all the cities of our tillage. %%% era nga tunaaleetanga ebibereberye eby'omugoyo gwaffe n'ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n'ebibala eby'oku miti egy'engeri zonna, omwenge n'amafuta, eri bakabona mu bisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe; n'ebitundu eby'ekkumi eby'ettaka lyaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby'ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira. 16NEH010.038 And the priest the son of Aaron shall be with the Levites, when the Levites take tithes: and the Levites shall bring up the tithe of the tithes unto the house of our God, to the chambers, into the treasure house. %%% Era kabona mutabani wa Alooni anaabanga wamu n'Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby'ekkumi: era Abaleevi banaaleetanga ekitundu eky'ekkumi eky'oku bitundu eby'ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey'okuterekamu eby'obugagga. 16NEH010.039 For the children of Israel and the children of Levi shall bring the offering of the corn, of the new wine, and the oil, unto the chambers, where are the vessels of the sanctuary, and the priests that minister, and the porters, and the singers: and we will not forsake the house of our God. %%% Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky'eŋŋaano n'eky'omwenge n'eky'amafuta mu bisenge omuli ebintu eby'omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n'abaggazi n'abayimbi: so tetuulekenga nnyumba ya Katonda waffe. 16NEH011.001 And the rulers of the people dwelt at Jerusalem: the rest of the people also cast lots, to bring one of ten to dwell in Jerusalem the holy city, and nine parts to dwell in other cities. %%% Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi: era n'abantu abalala ne bakuba obululu okuggya omu ku kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala. 16NEH011.002 And the people blessed all the men, that willingly offered themselves to dwell at Jerusalem. %%% Awo abantu ne beebaza abasajja bonna abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemi. 16NEH011.003 Now these are the chief of the province that dwelt in Jerusalem: but in the cities of Judah dwelt every one in his possession in their cities, to wit, Israel, the priests, and the Levites, and the Nethinims, and the children of Solomon's servants. %%% Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi: naye mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona n'Abaleevi n'Abanesinimu n'abaana b'abaddu ba Sulemaani. 16NEH011.004 And at Jerusalem dwelt certain of the children of Judah, and of the children of Benjamin. Of the children of Judah; Athaiah the son of Uzziah, the son of Zechariah, the son of Amariah, the son of Shephatiah, the son of Mahalaleel, of the children of Perez; %%% Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda ne ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda: Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi; 16NEH011.005 And Maaseiah the son of Baruch, the son of Colhozeh, the son of Hazaiah, the son of Adaiah, the son of Joiarib, the son of Zechariah, the son of Shiloni. %%% ne Maaseya mutabani wa Baluki mutabani wa Kolukoze mutabani wa Kazaya mutabani wa Adaya mutabani wa Yoyalibu mutabani wa Zekkaliya omwana w'Omusiiro. 16NEH011.006 All the sons of Perez that dwelt at Jerusalem were four hundred threescore and eight valiant men. %%% Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana abasajja abazira. 16NEH011.007 And these are the sons of Benjamin; Sallu the son of Meshullam, the son of Joed, the son of Pedaiah, the son of Kolaiah, the son of Maaseiah, the son of Ithiel, the son of Jesaiah. %%% Era bano be batabani ba Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu mutabani wa Yowedi, mutabani wa Pedaya mutabani wa Kolaya mutabani wa Maaseya mutabani wa Isiyeri mutabani wa Yesaya. 16NEH011.008 And after him Gabbai, Sallai, nine hundred twenty and eight. %%% Awo oluvannyuma lw'oyo Gabbayi ne Sallayi, olwenda mu amakumi abiri mu munaana. 16NEH011.009 And Joel the son of Zichri was their overseer: and Judah the son of Senuah was second over the city. %%% Ne Yoweeri, mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe: ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga. 16NEH011.010 Of the priests: Jedaiah the son of Joiarib, Jachin. %%% Ku bakabona: Yedaya mutabani wa Yoyalibu ne Yakini 16NEH011.011 Seraiah the son of Hilkiah, the son of Meshullam, the son of Zadok, the son of Meraioth, the son of Ahitub, was the ruler of the house of God. %%% ne Seraya mutabani wa Kirukiya mutabani wa Mesullamu mutabani wa Zadoki mutabani wa Merayoosi mutabani wa Akitubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda, 16NEH011.012 And their brethren that did the work of the house were eight hundred twenty and two: and Adaiah the son of Jeroham, the son of Pelaliah, the son of Amzi, the son of Zechariah, the son of Pashur, the son of Malchiah, %%% ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, olunaana mu abiri mu babiri: ne Adaya mutabani wa Yerokamu mutabani wa Peraliya mutabani wa Amuzi mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Pasukuli mutabani wa Malukiya, 16NEH011.013 And his brethren, chief of the fathers, two hundred forty and two: and Amashai the son of Azareel, the son of Ahasai, the son of Meshillemoth, the son of Immer, %%% ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ebikumi bibiri mu ana mu babiri: ne Amasusaayi mutabani wa Azaleri mutabani wa Azayi mutabani wa Mesiremoosi mutabani wa Immeri, 16NEH011.014 And their brethren, mighty men of valour, an hundred twenty and eight: and their overseer was Zabdiel, the son of one of the great men. %%% ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana: ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe. 16NEH011.015 Also of the Levites: Shemaiah the son of Hashub, the son of Azrikam, the son of Hashabiah, the son of Bunni; %%% Ne ku Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubu mutabani wa Azulikamu mutabani wa Kasabiya mutabani wa Bunni; 16NEH011.016 And Shabbethai and Jozabad, of the chief of the Levites, had the oversight of the outward business of the house of God. %%% ne Sabbesayi ne Yozabadi, ku bakulu b'Abaleevi abaalabiriranga emirimu egy'ebweru egy'ennyumba ya Katonda; 16NEH011.017 And Mattaniah the son of Micha, the son of Zabdi, the son of Asaph, was the principal to begin the thanksgiving in prayer: and Bakbukiah the second among his brethren, and Abda the son of Shammua, the son of Galal, the son of Jeduthun. %%% ne Mattaniya mutabani wa Mikka mutabani wa Zabudi mutabani wa Asafu eyali omukulu okuleeterezanga okwebaza bwe baasabanga, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa mutabani wa Galali mutabani wa Yedusuni. 16NEH011.018 All the Levites in the holy city were two hundred fourscore and four. %%% Abaleevi bonna abaali mu kibuga ekitukuvu baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana. 16NEH011.019 Moreover the porters, Akkub, Talmon, and their brethren that kept the gates, were an hundred seventy and two. %%% Era nate abaggazi, Akkubu ne Talumooni ne baganda baabwe abaakuumanga emiryango baali kikumi mu nsanvu mu babiri. 16NEH011.020 And the residue of Israel, of the priests, and the Levites, were in all the cities of Judah, every one in his inheritance. %%% N'Abaisiraeri bonna abalala, ku bakabona Abaleevi, baabanga mu bibuga byonna ebya Yuda, buli muntu mu busika bwe. 16NEH011.021 But the Nethinims dwelt in Ophel: and Ziha and Gispa were over the Nethinims. %%% Nave Abanesinimu ne babeeranga mu Oferi: ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abanesinimu. 16NEH011.022 The overseer also of the Levites at Jerusalem was Uzzi the son of Bani, the son of Hashabiah, the son of Mattaniah, the son of Micha. Of the sons of Asaph, the singers were over the business of the house of God. %%% Ne Uzzi mutabani wa Baani mutabani wa Kasabiya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda. 16NEH011.023 For it was the king's commandment concerning them, that a certain portion should be for the singers, due for every day. %%% Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira nga buli lunaku bwe lwetaaga. 16NEH011.024 And Pethahiah the son of Meshezabeel, of the children of Zerah the son of Judah, was at the king's hand in all matters concerning the people. %%% Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda yabanga ku mukono gwa kabaka olw'ebigambo byonna eby'abantu. 16NEH011.025 And for the villages, with their fields, some of the children of Judah dwelt at Kirjatharba, and in the villages thereof, and at Dibon, and in the villages thereof, and at Jekabzeel, and in the villages thereof, %%% N'olw'ebyalo n'ennimiro zaako, abamu ku baana ba Yuda ne babeeranga mu Kirasualuba ne mu bibuga byako, ne mu Diboni n'ebibuga byako, ne mu Yekabuzeeri n'ebyalo byako: 16NEH011.026 And at Jeshua, and at Moladah, and at Bethphelet, %%% ne mu Yesuwa ne mu Molada ne Besupereti; 16NEH011.027 And at Hazarshual, and at Beersheba, and in the villages thereof, %%% ne mu Kazalusuali ne mu Beeruseba ne mu bibuga byako; 16NEH011.028 And at Ziklag, and at Mekonah, and in the villages thereof, %%% ne mu Zikulagi ne mu Mekona n'ebibuga byako; 16NEH011.029 And at Enrimmon, and at Zareah, and at Jarmuth, %%% ne mu Enulimmoni ne mu Zola ne mu Yalamusi; 16NEH011.030 Zanoah, Adullam, and in their villages, at Lachish, and the fields thereof, at Azekah, and in the villages thereof. And they dwelt from Beersheba unto the valley of Hinnom. %%% Zanowa ne Adulamu n'ebyalo byako, Lakisi n'ennimiro zaako, Azeka n'ebibuga byako. Bwe batyo bwe baasiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu. 16NEH011.031 The children also of Benjamin from Geba dwelt at Michmash, and Aija, and Bethel, and in their villages, %%% Abaana ba Benyamini nabo ne babeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo e Mikumasi ne Ayiya, ne Beseri n'ebibuga byako; 16NEH011.032 And at Anathoth, Nob, Ananiah, %%% Anasosi ne Nobu ne Ananiya; 16NEH011.033 Hazor, Ramah, Gittaim, %%% Kazoli ne Laama ne Gittayimu; 16NEH011.034 Hadid, Zeboim, Neballat, %%% ne Kadidi ne Zeboyimu ne Neballati; 16NEH011.035 Lod, and Ono, the valley of craftsmen. %%% ne Loodi ne Ono, ekiwonvu eky'abakozi. 16NEH011.036 And of the Levites were divisions in Judah, and in Benjamin. %%% Ne ku Baleevi ebisanja ebimu eby'omu Yuda ne bigattibwa ne Benyamini. 16NEH012.001 Now these are the priests and the Levites that went up with Zerubbabel the son of Shealtiel, and Jeshua: Seraiah, Jeremiah, Ezra, %%% Era bano be bakabona n'Abaleevi abaayambuka ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa, Seraya ne Yeremiya ne Ezera; 16NEH012.002 Amariah, Malluch, Hattush, %%% ne Amaliya ne Malluki ne Kattusi; 16NEH012.003 Shechaniah, Rehum, Meremoth, %%% ne Sekaniya ne Lekumu ne Meremoosi; 16NEH012.004 Iddo, Ginnetho, Abijah, %%% ne Iddo ne Ginnesoyi ne Abiya; 16NEH012.005 Miamin, Maadiah, Bilgah, %%% ne Miyamini ne Maadiya ne Biruga; 16NEH012.006 Shemaiah, and Joiarib, Jedaiah, %%% ne Semaaya ne Yoyalibu ne Yedaya; 16NEH012.007 Sallu, Amok, Hilkiah, Jedaiah. These were the chief of the priests and of their brethren in the days of Jeshua. %%% ne Sallu ne Amoki ne Kirukiya ne Yedaya. Abo be baali abakulu ba bakabona n’aba baganda baabwe mu nnaku za Yesuwa. 16NEH012.008 Moreover the Levites: Jeshua, Binnui, Kadmiel, Sherebiah, Judah, and Mattaniah, which was over the thanksgiving, he and his brethren. %%% Era nate Abaleevi; Yesuwa ne Binnuyi ne Kadumyeri ne Serebiya ne Yuda ne Mattaniya eyali omukulu w'okwebaza, ye ne baganda be. 16NEH012.009 Also Bakbukiah and Unni, their brethren, were over against them in the watches. %%% Era Bakubukiya ne Unni baganda baabwe ne baboolekera mu bisanja. 16NEH012.010 And Jeshua begat Joiakim, Joiakim also begat Eliashib, and Eliashib begat Joiada, %%% Yesuwa n'azaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eriyasibu, Eriyasibu n'azaala Yoyaada, 16NEH012.011 And Joiada begat Jonathan, and Jonathan begat Jaddua. %%% Yoyaada n'azaala Yonasaani, Yonasaani n'azaala Yadduwa. 16NEH012.012 And in the days of Joiakim were priests, the chief of the fathers: of Seraiah, Meraiah; of Jeremiah, Hananiah; %%% Mu nnaku za Yoyakimu ne wabaawo bakabona emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe; owa Seraya, Meraya; owa Yeremiya, Kananiya; 16NEH012.013 Of Ezra, Meshullam; of Amariah, Jehohanan; %%% owa Ezera, Mesullamu; owa Amaliya, Yekokanani; 16NEH012.014 Of Melicu, Jonathan; of Shebaniah, Joseph; %%% owa Malluki, Yonasaani; owa Sebaniya, Yusufu; 16NEH012.015 Of Harim, Adna; of Meraioth, Helkai; %%% owa Kalimu, Aduna; owa Merayoosi, Kerukayi; 16NEH012.016 Of Iddo, Zechariah; of Ginnethon, Meshullam; %%% owa Iddo, Zekkaliya; owa Ginaesoni, Mesullamu; 16NEH012.017 Of Abijah, Zichri; of Miniamin, of Moadiah, Piltai; %%% owa Abiya, Zikuli; owa Miniyamini, owa Mowadiya, Pirutayi; 16NEH012.018 Of Bilgah, Shammua; of Shemaiah, Jehonathan; %%% owa Biruga, Sammuwa; owa Semaaya, Yekonasani; 16NEH012.019 And of Joiarib, Mattenai; of Jedaiah, Uzzi; %%% n'owa Yoyalibu, Mattenayi; owa Yedaya, Uzzi; 16NEH012.020 Of Sallai, Kallai; of Amok, Eber; %%% owa Sallayi, Kallayi; owa Amoki, Eberi; 16NEH012.021 Of Hilkiah, Hashabiah; of Jedaiah, Nethaneel. %%% owa Kirukiya, Kasabiya; owa Yedaya, Nesaneeri. 16NEH012.022 The Levites in the days of Eliashib, Joiada, and Johanan, and Jaddua, were recorded chief of the fathers: also the priests, to the reign of Darius the Persian. %%% Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada ne Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe: era ne bakabona, Daliyo Omuperusi nga ye kabaka. 16NEH012.023 The sons of Levi, the chief of the fathers, were written in the book of the chronicles, even until the days of Johanan the son of Eliashib. %%% Batabani ba Leevi, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu. 16NEH012.024 And the chief of the Levites: Hashabiah, Sherebiah, and Jeshua the son of Kadmiel, with their brethren over against them, to praise and to give thanks, according to the commandment of David the man of God, ward over against ward. %%% N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya ne Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde okutenderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekisanja nga kyolekera ekisanja. 16NEH012.025 Mattaniah, and Bakbukiah, Obadiah, Meshullam, Talmon, Akkub, were porters keeping the ward at the thresholds of the gates. %%% Mattaniya ne Bakubukiya ne Obadiya ne Mesullamu ne Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango. 16NEH012.026 These were in the days of Joiakim the son of Jeshua, the son of Jozadak, and in the days of Nehemiah the governor, and of Ezra the priest, the scribe. %%% Abo be baaliwo mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, n'ebya Ezera kabona omuwandiisi. 16NEH012.027 And at the dedication of the wall of Jerusalem they sought the Levites out of all their places, to bring them to Jerusalem, to keep the dedication with gladness, both with thanksgivings, and with singing, with cymbals, psalteries, and with harps. %%% Awo bwe baatukuza bbugwe wa Yerusaalemi, ne banoonya Abaleevi mu bifo byabwe byonna, okubaleeta e Yerusaalemi, okukwata embaga ey'okutukuza n'essanyu, nga beebaza era nga bayimba, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga. 16NEH012.028 And the sons of the singers gathered themselves together, both out of the plain country round about Jerusalem, and from the villages of Netophathi; %%% Abaana b'abayimbi ne bakuŋŋaana, okuva mu lusenyi olwetoolodde Yerusaalemi ne mu byalo eby'Abanetofa; 16NEH012.029 Also from the house of Gilgal, and out of the fields of Geba and Azmaveth: for the singers had builded them villages round about Jerusalem. %%% era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumaveesi kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi. 16NEH012.030 And the priests and the Levites purified themselves, and purified the people, and the gates, and the wall. %%% Awo bakabona n'Abaleevi ne beerongoosa; ne balongoosa abantu n'emiryango ne bbugwe. 16NEH012.031 Then I brought up the princes of Judah upon the wall, and appointed two great companies of them that gave thanks, whereof one went on the right hand upon the wall toward the dung gate: %%% Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa: 16NEH012.032 And after them went Hoshaiah, and half of the princes of Judah, %%% n'oluvannyuma lwabwe Kosaaya n'atambula n'ekitundu eky'abakulu ba Yuda, 16NEH012.033 And Azariah, Ezra, and Meshullam, %%% ne Azaliya ne Ezera ne Mesullamu 16NEH012.034 Judah, and Benjamin, and Shemaiah, and Jeremiah, %%% ne Yuda ne Benyamuu ne Semaaya ne Yeremiya, 16NEH012.035 And certain of the priests' sons with trumpets; namely, Zechariah the son of Jonathan, the son of Shemaiah, the son of Mattaniah, the son of Michaiah, the son of Zaccur, the son of Asaph: %%% n'abamu ku baana ba bakabona nga balina amakondeere: Zekkaliya mutabani wa Yoaasaani mutabani wa Semaaya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikaaya mutabani wa Zakkuli mutabani wa Asafu; 16NEH012.036 And his brethren, Shemaiah, and Azarael, Milalai, Gilalai, Maai, Nethaneel, and Judah, Hanani, with the musical instruments of David the man of God, and Ezra the scribe before them. %%% ne baganda be, Semaaya ne Azaleeri ne Miralayi ne Giralayi ne Maayi ne Nesaneeri ne Yuda ne Kanani, nga balina ebivuga ebya Dawudi omusajja wa Katonda; ne Ezera omuwandiisi ng'abaknlembedde: 16NEH012.037 And at the fountain gate, which was over against them, they went up by the stairs of the city of David, at the going up of the wall, above the house of David, even unto the water gate eastward. %%% ne bayita mu mulyango ogw'oluzzi n'okusimba mu maaso gaabwe ne balinnya ku lutindo olw'ekibuga kya Dawudi, bbugwe w'ayambukira waggulu w'ennyumba ya Dawudi okutuusa ku mulyango ogw'amazzi ebuvanjuba. 16NEH012.038 And the other company of them that gave thanks went over against them, and I after them, and the half of the people upon the wall, from beyond the tower of the furnaces even unto the broad wall; %%% N'ekibiina eky'okubiri eky'abo abeebaza ne bagenda okubasisinkana, nange nga mbavaako ennyuma, wamu n'ekitundu ky'abantu ku bbugwe engulu w'ekigo eky'ebikoomi, okutuusa ku bbugwe omugazi; 16NEH012.039 And from above the gate of Ephraim, and above the old gate, and above the fish gate, and the tower of Hananeel, and the tower of Meah, even unto the sheep gate: and they stood still in the prison gate. %%% era engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'ekigo kya Kananeri, n'ekigo kya Kameya, okutuusa ku mulyango ogw'endiga: ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi. 16NEH012.040 So stood the two companies of them that gave thanks in the house of God, and I, and the half of the rulers with me: %%% Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange n'ekitundu ky'abakulu wamu nange: 16NEH012.041 And the priests; Eliakim, Maaseiah, Miniamin, Michaiah, Elioenai, Zechariah, and Hananiah, with trumpets; %%% ne bakabona, Eriyakimu ne Maaseya ne Miniyamini ne Mikaaya ne Eriwenayi ne Zekkaliya ne Kananiya nga balina amakondeere; 16NEH012.042 And Maaseiah, and Shemaiah, and Eleazar, and Uzzi, and Jehohanan, and Malchijah, and Elam, and Ezer. And the singers sang loud, with Jezrahiah their overseer. %%% ne Maaseya ne Semaaya ne Ereyazaali ne Uzzi ne Yekokanani ne Malukiya ne Eramu ne Ezera. Abayimbi ne bayimba n'eddoboozi ddene, Yezulakiya nga ye mukulu waabwe. 16NEH012.043 Also that day they offered great sacrifices, and rejoiced: for God had made them rejoice with great joy: the wives also and the children rejoiced: so that the joy of Jerusalem was heard even afar off. %%% Ne bawaayo ssaddaaka enkulu ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka: awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala. 16NEH012.044 And at that time were some appointed over the chambers for the treasures, for the offerings, for the firstfruits, and for the tithes, to gather into them out of the fields of the cities the portions of the law for the priests and Levites: for Judah rejoiced for the priests and for the Levites that waited. %%% Awo ku lunaku olwo ne balonda abantu okuba abakulu b'enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu ng’ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka: kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza. 16NEH012.045 And both the singers and the porters kept the ward of their God, and the ward of the purification, according to the commandment of David, and of Solomon his son. %%% Era baakwata ebisanja bya Katonda waabwe n'ebisanja eby’okulongoosa, era bwe batyo bwe baakola n'abayimbi n'abaggazi ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we. 16NEH012.046 For in the days of David and Asaph of old there were chief of the singers, and songs of praise and thanksgiving unto God. %%% Kubanga mu nurembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga dokwebazanga Katonda. 16NEH012.047 And all Israel in the days of Zerubbabel, and in the days of Nehemiah, gave the portions of the singers and the porters, every day his portion: and they sanctified holy things unto the Levites; and the Levites sanctified them unto the children of Aaron. %%% Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali: ne batukulizanga Abaleevi; Abaleevi ne batukulizanga batabani ba Alooni. 16NEH013.001 On that day they read in the book of Moses in the audience of the people; and therein was found written, that the Ammonite and the Moabite should not come into the congregation of God for ever; %%% Ku lunaku olwo ne basoma mu kitabo kya Musa mu matu g'abantu; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna; 16NEH013.002 Because they met not the children of Israel with bread and with water, but hired Balaam against them, that he should curse them: howbeit our God turned the curse into a blessing. %%% kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri nga balina emmere n'amazzi, naye ne bagulirira Balaamu eri bo okubakolimira: era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa. 16NEH013.003 Now it came to pass, when they had heard the law, that they separated from Israel all the mixed multitude. %%% Awo olwatuuka bwe baawulira amateeka, ne balyoka baawula mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannaggwanga. 16NEH013.004 And before this, Eliashib the priest, having the oversight of the chamber of the house of our God, was allied unto Tobiah: %%% Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, bwe yali mukoddomi wa Tobiya, 16NEH013.005 And he had prepared for him a great chamber, where aforetime they laid the meat offerings, the frankincense, and the vessels, and the tithes of the corn, the new wine, and the oil, which was commanded to be given to the Levites, and the singers, and the porters; and the offerings of the priests. %%% Yali amutegekedde ekisenge ekinene, gye baateekeranga edda ebiweebwayo eby'obutta, n'omugavu, n'ebintu, n'ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, Abaleevi bye baaweebwanga olw'ekiragiro n'abayimbi n'abaggazi n'ebiweebwayo ebisitulibwa ebya bakabona. 16NEH013.006 But in all this time was not I at Jerusalem: for in the two and thirtieth year of Artaxerxes king of Babylon came I unto the king, and after certain days obtained I leave of the king: %%% Naye mu biro ebyo byonna nze nga siri Yerusaalemi: kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni ne ŋŋenda eri kabaka, awo nga wayiseewo ennaku, ne ndaga kabaka: 16NEH013.007 And I came to Jerusalem, and understood of the evil that Eliashib did for Tobiah, in preparing him a chamber in the courts of the house of God. %%% ne njija e Yerusaalemi ne ntegeera obubi Eriyasibu bwe yali akoze olwa Tobiya, ng'amutegekera ekisenge mu mpya ez'ennyumba ya Katonda. 16NEH013.008 And it grieved me sore: therefore I cast forth all the household stuff of Tobiah out of the chamber. %%% Ne kinnakuwaza nnyo: kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge. 16NEH013.009 Then I commanded, and they cleansed the chambers: and thither brought I again the vessels of the house of God, with the meat offering and the frankincense. %%% Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge: ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu. 16NEH013.010 And I perceived that the portions of the Levites had not been given them: for the Levites and the singers, that did the work, were fled every one to his field. %%% Ne ntegeera nga Abaleevi baali tebannaweebwa migabo gyabwe; awo Abaleevi n'abayimbi abaakolanga omulimu nga baddukidde buli muntu mu kyalo kye. 16NEH013.011 Then contended I with the rulers, and said, Why is the house of God forsaken? And I gathered them together, and set them in their place. %%% Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda? Ne mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe. 16NEH013.012 Then brought all Judah the tithe of the corn and the new wine and the oil unto the treasuries. %%% Awo Abayuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta eri amawanika. 16NEH013.013 And I made treasurers over the treasuries, Shelemiah the priest, and Zadok the scribe, and of the Levites, Pedaiah: and next to them was Hanan the son of Zaccur, the son of Mattaniah: for they were counted faithful, and their office was to distribute unto their brethren. %%% Ne nzisaawo abawanika ku mawanika, Seremiya kabona ne Zadoki omuwandiisi, ne ku Baleevi, Pedaya: ne Kanani ye yabaddirira mutabani wa Zakkuli mutabani wa Mattaniya kubanga baalowoozebwa okuba abeesigwa, n'omulimu gwabwe kugabiranga baganda baabwe. 16NEH013.014 Remember me, O my God, concerning this, and wipe not out my good deeds that I have done for the house of my God, and for the offices thereof. %%% Onjijukiranga, ai Katonda wange, olw'ekigambo ekyo, so tosangula bikolwa byange ebirungi bye nnakolera ennyumba ya Katonda wange n'olw'ebyo ebikwatirwa omwo. 16NEH013.015 In those days saw I in Judah some treading wine presses on the sabbath, and bringing in sheaves, and lading asses; as also wine, grapes, and figs, and all manner of burdens, which they brought into Jerusalem on the sabbath day: and I testified against them in the day wherein they sold victuals. %%% Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basambira ku ssabbiiti amasogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettiini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingiza mu Yerusaalemi ku lunaku olwa ssabbiiti: ne mba omujulirwa eri bo ku lunaku kwe baatundira ebyokulya. 16NEH013.016 There dwelt men of Tyre also therein, which brought fish, and all manner of ware, and sold on the sabbath unto the children of Judah, and in Jerusalem. %%% Era mwabeeramu abasajja ab’e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne babaguliza ku ssabbiiti abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi. 16NEH013.017 Then I contended with the nobles of Judah, and said unto them, What evil thing is this that ye do, and profane the sabbath day? %%% Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa ssabbiiti? 16NEH013.018 Did not your fathers thus, and did not our God bring all this evil upon us, and upon this city? yet ye bring more wrath upon Israel by profaning the sabbath. %%% Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu ku Isiraeri nga mwonoona ssabbiiti. 16NEH013.019 And it came to pass, that when the gates of Jerusalem began to be dark before the sabbath, I commanded that the gates should be shut, and charged that they should not be opened till after the sabbath: and some of my servants set I at the gates, that there should no burden be brought in on the sabbath day. %%% Awo olwatuuka ekizikiza bwe kyasooka okukwata enzigi ez'e Yerusaalemi ssabbiiti ng'eneebaako enkya, ne ndagira okuggalawo enzigi, ne ndagira obutaziggulawo okutuusa ssabbiiti lw'eriggwaako: ne nteeka abamu ku baddu bange ku nzigi, baleme okuyingiza omugugu gwonna ku lunaku olwa ssabbiiti. 16NEH013.020 So the merchants and sellers of all kind of ware lodged without Jerusalem once or twice. %%% Awo abasuubuzi n'abatunzi b'ebintu eby'engeri zonna ne basula ebweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri. 16NEH013.021 Then I testified against them, and said unto them, Why lodge ye about the wall? if ye do so again, I will lay hands on you. From that time forth came they no more on the sabbath. %%% Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata. Awo okuva ku lunaku olwo ne batajjira nate ku ssabbiiti. 16NEH013.022 And I commanded the Levites that they should cleanse themselves, and that they should come and keep the gates, to sanctify the sabbath day. Remember me, O my God, concerning this also, and spare me according to the greatness of thy mercy. %%% Awo ne ndagira Abaleevi okwerongoosa, era okujja okukuuma enzigi okutukuza olunaku olwa ssabbiiti. Onjijukiriranga, ai Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi. 16NEH013.023 In those days also saw I Jews that had married wives of Ashdod, of Ammon, and of Moab: %%% Mu biro ebyo era ne ndaba Abayudaaya abaali bawasizza abakazi ba Asudodi n'aba Amoni n'aba Mowaabu: 16NEH013.024 And their children spake half in the speech of Ashdod, and could not speak in the Jews' language, but according to the language of each people. %%% n'abaana baabwe baayogeranga ekitundu lulimi lwa Asudodi so tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga bwe lwali. 16NEH013.025 And I contended with them, and cursed them, and smote certain of them, and plucked off their hair, and made them swear by God, saying, Ye shall not give your daughters unto their sons, nor take their daughters unto your sons, or for yourselves. %%% Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini. 16NEH013.026 Did not Solomon king of Israel sin by these things? yet among many nations was there no king like him, who was beloved of his God, and God made him king over all Israel: nevertheless even him did outlandish women cause to sin. %%% Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyayonoonanga mu ebyo? naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna: era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa. 16NEH013.027 Shall we then hearken unto you to do all this great evil, to transgress against our God in marrying strange wives? %%% Kale tunaabawulira mmwe okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga? 16NEH013.028 And one of the sons of Joiada, the son of Eliashib the high priest, was son in law to Sanballat the Horonite: therefore I chased him from me. %%% Era omu ku batabani ba Yoyada mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni: kyennava mmugoba gye ndi. 16NEH013.029 Remember them, O my God, because they have defiled the priesthood, and the covenant of the priesthood, and of the Levites. %%% Obajjukiranga, ai Katonda wange, kubanga baayonoona obwakabona n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi. 16NEH013.030 Thus cleansed I them from all strangers, and appointed the wards of the priests and the Levites, every one in his business; %%% Bwe ntyo bwe nnabalongoosa eri bannaggwanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe; 16NEH013.031 And for the wood offering, at times appointed, and for the firstfruits. Remember me, O my God, for good. %%% n'olwekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo; n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga, ai Katonda wange, okunkola obulungi. 17EST001.001 Now it came to pass in the days of Ahasuerus, (this is Ahasuerus which reigned, from India even unto Ethiopia, over an hundred and seven and twenty provinces:) %%% Awo olwatuuka ku miretnbe gya Akaswero (ye Akaswero oyo eyafuga okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya, amasaza kikumi mu amakumi abiri mu musanvu:) 17EST001.002 That in those days, when the king Ahasuerus sat on the throne of his kingdom, which was in Shushan the palace, %%% awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatuula ku ntebe y'obwakabaka bwe eyali mu lubiri lw’e Susani, 17EST001.003 In the third year of his reign, he made a feast unto all his princes and his servants; the power of Persia and Media, the nobles and princes of the provinces, being before him: %%% mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; obuyinza bw'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge: 17EST001.004 When he shewed the riches of his glorious kingdom and the honour of his excellent majesty many days, even an hundred and fourscore days. %%% n'ayoleseza ennaku nnyingi obugagga obw'obwakabaka bwe obw'ekitiibwa n'ettendo ery'obukulu bwe obutasingika, ennaku kikumi mu kinaana. 17EST001.005 And when these days were expired, the king made a feast unto all the people that were present in Shushan the palace, both unto great and small, seven days, in the court of the garden of the king's palace; %%% Awo ennaku ezo bwe zaatuukirira, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali bali awo mu lubiri w'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olw'oku lusuku olw'olubiri lwa kabaka; 17EST001.006 Where were white, green, and blue, hangings, fastened with cords of fine linen and purple to silver rings and pillars of marble: the beds were of gold and silver, upon a pavement of red, and blue, and white, and black, marble. %%% waaliwo ebitimbe eby'engoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga bisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira: ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu. 17EST001.007 And they gave them drink in vessels of gold, (the vessels being diverse one from another,) and royal wine in abundance, according to the state of the king. %%% Ne babanywesa mu bintu ebya zaabu, (ebintu nga tebifaanana byokka na byokka,) n'omwenge ogwa kabaka mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali. 17EST001.008 And the drinking was according to the law; none did compel: for so the king had appointed to all the officers of his house, that they should do according to every man's pleasure. %%% N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala: 17EST001.009 Also Vashti the queen made a feast for the women in the royal house which belonged to king Ahasuerus. %%% Ne Vasuti kaddulubaale n'afumbira abakazi embaga mu nnyumba ya kabaka, eya kabaka Akaswero: 17EST001.010 On the seventh day, when the heart of the king was merry with wine, he commanded Mehuman, Biztha, Harbona, Bigtha, and Abagtha, Zethar, and Carcas, the seven chamberlains that served in the presence of Ahasuerus the king, %%% Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani ne Bizusa ne Kalubona ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka, 17EST001.011 To bring Vashti the queen before the king with the crown royal, to shew the people and the princes her beauty: for she was fair to look on. %%% okuteeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka okwolesa amawanga n'abakungu obulungi bwe kubanga yali mulungi okutunuulira: 17EST001.012 But the queen Vashti refused to come at the king's commandment by his chamberlains: therefore was the king very wroth, and his anger burned in him. %%% Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja olw'ekiragiro kya kabaka bwe yamulagiriza abalaawe: kabaka kyeyava asunguwala ennyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye. 17EST001.013 Then the king said to the wise men, which knew the times, (for so was the king's manner toward all that knew law and judgment: %%% Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, (kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka eri bonna abaamanya amateeka n'emisango; 17EST001.014 And the next unto him was Carshena, Shethar, Admatha, Tarshish, Meres, Marsena, and Memucan, the seven princes of Persia and Media, which saw the king's face, and which sat the first in the kingdom;) %%% ne Kalusena ne Sesali ne Adumasa ne Talusiisi ne Melesi ne Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab'e Buperusi n'e Bumeedi; abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddirira:) nti 17EST001.015 What shall we do unto the queen Vashti according to law, because she hath not performed the commandment of the king Ahasuerus by the chamberlains? %%% Tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti ng'amateeka bwe gali, kubanga takoze ekyo kabaka Akaswero ky'amulagirizza abalaawe? 17EST001.016 And Memucan answered before the king and the princes, Vashti the queen hath not done wrong to the king only, but also to all the princes, and to all the people that are in all the provinces of the king Ahasuerus. %%% Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti Vasuti kaddulubaale tayonoonye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero. 17EST001.017 For this deed of the queen shall come abroad unto all women, so that they shall despise their husbands in their eyes, when it shall be reported, The king Ahasuerus commanded Vashti the queen to be brought in before him, but she came not. %%% Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomesanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja. 17EST001.018 Likewise shall the ladies of Persia and Media say this day unto all the king's princes, which have heard of the deed of the queen. Thus shall there arise too much contempt and wrath. %%% Awo ku lunaku luno abakyala ab’e Buperusi n'e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka: Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu. 17EST001.019 If it please the king, let there go a royal commandment from him, and let it be written among the laws of the Persians and the Medes, that it be not altered, That Vashti come no more before king Ahasuerus; and let the king give her royal estate unto another that is better than she. %%% Kabaka bw'anaasiima bw'atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireme okuwaanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka abuwe omulala amusinga obulungi. 17EST001.020 And when the king's decree which he shall make shall be published throughout all his empire, (for it is great,) all the wives shall give to their husbands honour, both to great and small. %%% Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, (kubanga bunene,) kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato. 17EST001.021 And the saying pleased the king and the princes; and the king did according to the word of Memucan: %%% Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyali: 17EST001.022 For he sent letters into all the king's provinces, into every province according to the writing thereof, and to every people after their language, that every man should bear rule in his own house, and that it should be published according to the language of every people. %%% kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka; mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali. 17EST002.001 After these things, when the wrath of king Ahasuerus was appeased, he remembered Vashti, and what she had done, and what was decreed against her. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, n'alyoka ajjukira Vasuti n'ekyo kye yakola n'ekyo ekyateekebwa eri ye. 17EST002.002 Then said the king's servants that ministered unto him, Let there be fair young virgins sought for the king: %%% Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Banoonyeze kabaka abawala abato abalungi abatamanyi musajja: 17EST002.003 And let the king appoint officers in all the provinces of his kingdom, that they may gather together all the fair young virgins unto Shushan the palace, to the house of the women, unto the custody of Hege the king's chamberlain, keeper of the women; and let their things for purification be given them: %%% era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okulongoosa babiweebwe: 17EST002.004 And let the maiden which pleaseth the king be queen instead of Vashti. And the thing pleased the king; and he did so. %%% awo omuwala kabaka gw'alisiima abe kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; n'akola bw'atyo. 17EST002.005 Now in Shushan the palace there was a certain Jew, whose name was Mordecai, the son of Jair, the son of Shimei, the son of Kish, a Benjamite; %%% Waaliwo Omuyudaaya mu Susani mu lubiri, erinnya lye Moluddekaayi mutabani wa Yayiri mutabani wa Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini; 17EST002.006 Who had been carried away from Jerusalem with the captivity which had been carried away with Jeconiah king of Judah, whom Nebuchadnezzar the king of Babylon had carried away. %%% eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni gwe yatwala. 17EST002.007 And he brought up Hadassah, that is, Esther, his uncle's daughter: for she had neither father nor mother, and the maid was fair and beautiful; whom Mordecai, when her father and mother were dead, took for his own daughter. %%% N'alera Kadassa, ye Eseza muwala wa kitaawe omuto: kubanga teyalina kitaawe newakubadde nnyina, era omuwala oyo yali mulungi nnyo; awo nnyina ne kitaawe bwe baafa, Moluddekaayi n'amutwala okuba omwana we ye. 17EST002.008 So it came to pass, when the king's commandment and his decree was heard, and when many maidens were gathered together unto Shushan the palace, to the custody of Hegai, that Esther was brought also unto the king's house, to the custody of Hegai, keeper of the women. %%% Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri mu mukono gwa Kegayi, awo Eseza n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka mu mukono gwa Kegayi omukuumi w'abakazi. 17EST002.009 And the maiden pleased him, and she obtained kindness of him; and he speedily gave her her things for purification, with such things as belonged to her, and seven maidens, which were meet to be given her, out of the king's house: and he preferred her and her maids unto the best place of the house of the women. %%% Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa eri ye; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okulongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu abaagwanira okubamuwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka: n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi. 17EST002.010 Esther had not shewed her people nor her kindred: for Mordecai had charged her that she should not shew it. %%% Eseza yali tategeezanga abantu be bwe baali newakubadde ekika kye: kubanga Moluddekaayi yali amukuutidde obutakitegeeza. 17EST002.011 And Mordecai walked every day before the court of the women's house, to know how Esther did, and what should become of her. %%% Era Moluddekaayi n'atambuliranga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era ky'alibeera. 17EST002.012 Now when every maid's turn was come to go in to king Ahasuerus, after that she had been twelve months, according to the manner of the women, (for so were the days of their purifications accomplished, to wit, six months with oil of myrrh, and six months with sweet odours, and with other things for the purifying of the women;) %%% Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwajja okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri, (kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaatuukiriranga bwe zityo, emyezi mukaaga amafuta ag'omugavu, n’emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu eby'okulongoosa abakazi,) 17EST002.013 Then thus came every maiden unto the king; whatsoever she desired was given her to go with her out of the house of the women unto the king's house. %%% kale bw'atyo omuwala n’alyoka ajja eri kabaka, kyonna kye yayagala n'akiweebwa okugenda naye ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka. 17EST002.014 In the evening she went, and on the morrow she returned into the second house of the women, to the custody of Shaashgaz, the king's chamberlain, which kept the concubines: she came in unto the king no more, except the king delighted in her, and that she were called by name. %%% Yagenda akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi ey'okubiri mu mukono gwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana: teyayingira nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya. 17EST002.015 Now when the turn of Esther, the daughter of Abihail the uncle of Mordecai, who had taken her for his daughter, was come to go in unto the king, she required nothing but what Hegai the king's chamberlain, the keeper of the women, appointed. And Esther obtained favour in the sight of all them that looked upon her. %%% Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto eyamutwala okuba omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira. 17EST002.016 So Esther was taken unto king Ahasuerus into his house royal in the tenth month, which is the month Tebeth, in the seventh year of his reign. %%% Awo Eseza n'atwalibwa eri kabaka Akaswero mu nnyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi Tebesi mu mwaka ogw'omusanvu ogw'okufuga kwe. 17EST002.017 And the king loved Esther above all the women, and she obtained grace and favour in his sight more than all the virgins; so that he set the royal crown upon her head, and made her queen instead of Vashti. %%% Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna: n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. 17EST002.018 Then the king made a great feast unto all his princes and his servants, even Esther's feast; and he made a release to the provinces, and gave gifts, according to the state of the king. %%% Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyibwa, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali. 17EST002.019 And when the virgins were gathered together the second time, then Mordecai sat in the king's gate. %%% Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogw'okubiri, awo Moluddekaayi n'atuula mu mulyango gwa kabaka. 17EST002.020 Esther had not yet shewed her kindred nor her people; as Mordecai had charged her: for Esther did the commandment of Mordecai, like as when she was brought up with him. %%% Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddeksayi bwe yamukuutira: kubanga Eseza yakola ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera. 17EST002.021 In those days, while Mordecai sat in the king's gate, two of the king's chamberlains, Bigthan and Teresh, of those which kept the door, were wroth, and sought to lay hand on the king Ahasuerus. %%% Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng'atudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okukwata kabaka Akaswero. 17EST002.022 And the thing was known to Mordecai, who told it unto Esther the queen; and Esther certified the king thereof in Mordecai's name. %%% Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moluddekaayi n'akibuulira Eseza kaddulubaale; Eseza n'abuulira kabaka mu linnya lya Moluddekaayi. 17EST002.022 And when inquisition was made of the matter, it was found out; therefore they were both hanged on a tree: and it was written in the book of the chronicles before the king. %%% Awo ekigambo ekyo bwe baakikenneenya, ne kirabika nga bwe kyali bwe kityo, bombi ne bawanikibwa ku muti: awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo ebya buli lunaku mu maaso ga kabaka. 17EST003.001 After these things did king Ahasuerus promote Haman the son of Hammedatha the Agagite, and advanced him, and set his seat above all the princes that were with him. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n’amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye. 17EST003.002 And all the king's servants, that were in the king's gate, bowed, and reverenced Haman: for the king had so commanded concerning him. But Mordecai bowed not, nor did him reverence. %%% Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bakutamira Kamani ne bamuvuunamira: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo ebigambo bye. Naye Moluddekaayi teyamukutamira so teyamuvuunamira. 17EST003.003 Then the king's servants, which were in the king's gate, said unto Mordecai, Why transgressest thou the king's commandment? %%% Awo abaddu ba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bagamba Moluddekaayi nti Kiki ekikusobesa ekiragiro kya kabaka? 17EST003.004 Now it came to pass, when they spake daily unto him, and he hearkened not unto them, that they told Haman, to see whether Mordecai's matters would stand: for he had told them that he was a Jew. %%% Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba ebigambo bya Moluddekaayi oba nga binaanywera: kubanga yali ababuulidde nga Muyudaaya. 17EST003.005 And when Haman saw that Mordecai bowed not, nor did him reverence, then was Haman full of wrath. %%% Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi teyakutama so teyamuvuunamira, kale Kamani n’ajjula obusungu. 17EST003.006 And he thought scorn to lay hands on Mordecai alone; for they had shewed him the people of Mordecai: wherefore Haman sought to destroy all the Jews that were throughout the whole kingdom of Ahasuerus, even the people of Mordecai. %%% Naye n'alaba nga tekugasa okukwata Moluddekaayi yekka; kubanga baali bamutegeezezza abantu ba Moluddekaayi bwe baali: Kamani kyeyava asala amagezi okuzikiriza Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero, abantu ba Moluddekaayi. 17EST003.007 In the first month, that is, the month Nisan, in the twelfth year of king Ahasuerus, they cast Pur, that is, the lot, before Haman from day to day, and from month to month, to the twelfth month, that is, the month Adar. %%% Awo mu mwezi ogw'olubereberye, gwe mwezi Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali. 17EST003.008 And Haman said unto king Ahasuerus, There is a certain people scattered abroad and dispersed among the people in all the provinces of thy kingdom; and their laws are diverse from all people; neither keep they the king's laws: therefore it is not for the king's profit to suffer them. %%% Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti Waliwo abantu abasaasaanye abataataaganye mu mawanga mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka; kyekiva kirema okugasa kabaka okubaganya. 17EST003.009 If it please the king, let it be written that they may be destroyed: and I will pay ten thousand talents of silver to the hands of those that have the charge of the business, to bring it into the king's treasuries. %%% Kabaka bw'anaasiima, kiwandiikibwe bazikirizibwe: nange ndisasula ettalanta eza ffeeza kakumi mu mikono gy'abo abateresebbwa okukuuma omulimu (gwa kabaka), okuzireeta mu mawanika ga kabaka. 17EST003.010 And the king took his ring from his hand, and gave it unto Haman the son of Hammedatha the Agagite, the Jews' enemy. %%% Awo kabaka n'aggya empeta ye ku mukono gwe n'agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya. 17EST003.011 And the king said unto Haman, The silver is given to thee, the people also, to do with them as it seemeth good to thee. %%% Awo kabaka n'agamba Kamani nti Effeeza eweereddwa gy'oli era n'abantu okubakola nga bw'osiima. 17EST003.012 Then were the king's scribes called on the thirteenth day of the first month, and there was written according to all that Haman had commanded unto the king's lieutenants, and to the governors that were over every province, and to the rulers of every people of every province according to the writing thereof, and to every people after their language; in the name of king Ahasuerus was it written, and sealed with the king's ring. %%% Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali: mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka. 17EST003.013 And the letters were sent by posts into all the king's provinces, to destroy, to kill, and to cause to perish, all Jews, both young and old, little children and women, in one day, even upon the thirteenth day of the twelfth month, which is the month Adar, and to take the spoil of them for a prey. %%% Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abato n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw’ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi Adali, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo. 17EST003.014 The copy of the writing for a commandment to be given in every province was published unto all people, that they should be ready against that day. %%% Ebyaggibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo. 17EST003.015 The posts went out, being hastened by the king's commandment, and the decree was given in Shushan the palace. And the king and Haman sat down to drink; but the city Shushan was perplexed. %%% Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani: awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kibulwa amagezi. 17EST004.001 When Mordecai perceived all that was done, Mordecai rent his clothes, and put on sackcloth with ashes, and went out into the midst of the city, and cried with a loud and a bitter cry; %%% Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, Moluddekaayi n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu n'evvu, n'afuluma n'agenda mu kibuga wakati, n'akaaba n'eddoboozi ddene ery'ennaku nnyingi: 17EST004.002 And came even before the king's gate: for none might enter into the king's gate clothed with sackcloth. %%% n'ajja mu maaso g'omulyango gwa kabaka: kubanga tewali eyayinza okuyingira mu mulyango gwa kabaka ng'ayambadde ebibukutu. 17EST004.003 And in every province, whithersoever the king's commandment and his decree came, there was great mourning among the Jews, and fasting, and weeping, and wailing; and many lay in sackcloth and ashes. %%% Awo mu buli ssaza ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga ne waba okuwuubaala kungi mu Bayudaaya n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okukuba ebiwoobe; kale bangi abaagalamira nga bambadde ebibukutu n'evvu. 17EST004.004 So Esther's maids and her chamberlains came and told it her. Then was the queen exceedingly grieved; and she sent raiment to clothe Mordecai, and to take away his sackcloth from him: but he received it not. %%% Awo abawala ba Eseza n'abalaawe be ne bajja ne bamubuulira; kaddulubaale n'anakuwala nnyo: n'aweereza ebyambalo Moluddekaayi by'aba ayambala, n'okumuggyako ebibukutu bye: naye n'atabikkiriza. 17EST004.005 Then called Esther for Hatach, one of the king's chamberlains, whom he had appointed to attend upon her, and gave him a commandment to Mordecai, to know what it was, and why it was. %%% Awo Eseza n'ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza, n'amukuutira okugenda eri Moluddekaayi okumanya ekigambo ekyo bwe kyali n'ensonga yaakyo. 17EST004.006 So Hatach went forth to Mordecai unto the street of the city, which was before the king's gate. %%% Awo Kasaki n'afuluma n'agenda eri Moluddekaayi awali ekifo ekigazi eky'ekibuga ekyayolekera omulyango gwa kabaka. 17EST004.007 And Mordecai told him of all that had happened unto him, and of the sum of the money that Haman had promised to pay to the king's treasuries for the Jews, to destroy them. %%% Awo Moluddekaayi n'amubuulira byonna ebyamubaako, n'ebintu bwe byenkanira ddala Kamani bye yasuubiza okusasula mu mawanika ga kabaka olw'Abayudaaya, okubazikiriza. 17EST004.008 Also he gave him the copy of the writing of the decree that was given at Shushan to destroy them, to shew it unto Esther, and to declare it unto her, and to charge her that she should go in unto the king, to make supplication unto him, and to make request before him for her people. %%% Era n'amuwa n'ebyaggibwa mu kiwandiike eky'etteeka eryalaalikibwa mu Susani okubazikiriza okulyolesa Eseza n'okulimubuulira; n'okumukuutira ayingire eri kabaka amwegayirire era asabire abantu be mu maaso ge. 17EST004.009 And Hatach came and told Esther the words of Mordecai. %%% Awo Kasaki n'ajja n'abuulira Eseza ebigambo bya Moluddekaayi. 17EST004.010 Again Esther spake unto Hatach, and gave him commandment unto Mordecai; %%% Awo Eseza n'agamba Kasaki n'amuwa ebigambo eby'okutwalira Moluddekaayi, nti 17EST004.011 All the king's servants, and the people of the king's provinces, do know, that whosoever, whether man or woman, shall come unto the king into the inner court, who is not called, there is one law of his to put him to death, except such to whom the king shall hold out the golden sceptre, that he may live: but I have not been called to come in unto the king these thirty days. %%% Abaddu ba kabaka bonna n'abantu ab'omu masaza ga kabaka bamanyi nga buli muntu, oba musajja oba mukazi, anaayingiranga eri kabaka mu luggya olw'omunda atayitiddwa, waliwo etteeka limu eri ye, attibwenga, wabula abo kabaka b'agololera omuggo ogwa zaabu abeere omulamu: naye nze siyitibwanga okuyingira eri kabaka, ennaku ziri amakumi asatu. 17EST004.012 And they told to Mordecai Esther's words. %%% Awo ne babuulira Moluddekaayi ebigambo bya Eseza. 17EST004.013 Then Mordecai commanded to answer Esther, Think not with thyself that thou shalt escape in the king's house, more than all the Jews. %%% Awo Moluddekaayi n'abalagira okuddiza Eseza ebigambo nti Tolowoozanga mu mwoyo gwo nga ggwe ogenda okuwona mu nnyumba ya kabaka okusinga Abayudaaya bonna. 17EST004.014 For if thou altogether holdest thy peace at this time, then shall there enlargement and deliverance arise to the Jews from another place; but thou and thy father's house shall be destroyed: and who knoweth whether thou art come to the kingdom for such a time as this? %%% Kubanga bw'onoosirikira ddala mu biro bino, kale okulokoka n'okuwona kuliva awalala eri Abayudaaya, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo balizikirira: era ani amanyi oba nga ozze mu bwakaddulubaale olw'ebiro ebifaanana bwe bityo? 17EST004.015 Then Esther bade them return Mordecai this answer, %%% Awo Eseza n'abalagira okuddiza Moluddekaayi ebigambo nti 17EST004.016 Go, gather together all the Jews that are present in Shushan, and fast ye for me, and neither eat nor drink three days, night or day: I also and my maidens will fast likewise; and so will I go in unto the king, which is not according to the law: and if I perish, I perish. %%% Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abaliwo mu Susani, munsiibire, so temulya newakubadde okunywa ennaku ssatu emisana n'ekiro; era nange n'abawala bange tunaasiiba bwe tutyo: bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka: era bwe ndizikirira, ndizikirira. 17EST004.017 So Mordecai went his way, and did according to all that Esther had commanded him. %%% Awo Moluddekaayi n'addayo n'akola nga byonna bwe byali Eseza by'amulagidde. 17EST005.001 Now it came to pass on the third day, that Esther put on her royal apparel, and stood in the inner court of the king's house, over against the king's house: and the king sat upon his royal throne in the royal house, over against the gate of the house. %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya kaddulubaale, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka: kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba. 17EST005.002 And it was so, when the king saw Esther the queen standing in the court, that she obtained favour in his sight: and the king held out to Esther the golden sceptre that was in his hand. So Esther drew near, and touched the top of the sceptre. %%% Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge: kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo. 17EST005.003 Then said the king unto her, What wilt thou, queen Esther? and what is thy request? it shall be even given thee to the half of the kingdom. %%% Awo kabaka n'alyoka amugamba nti Oyagala ki, kaddulubaale Eseza? era kiruwa kye weegayirira? onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka. 17EST005.004 And Esther answered, If it seem good unto the king, let the king and Haman come this day unto the banquet that I have prepared for him. %%% Awo Eseza n'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, kabaka ne Kamani bajje leero eri embaga gye mmufumbidde. 17EST005.005 Then the king said, Cause Haman to make haste, that he may do as Esther hath said. So the king and Haman came to the banquet that Esther had prepared. %%% Awo kabaka n'ayogera nti Mwanguye Kamani kikolebwe nga Eseza bw'ayogedde. Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga Eseza gye yali afumbye. 17EST005.006 And the king said unto Esther at the banquet of wine, What is thy petition? and it shall be granted thee: and what is thy request? even to the half of the kingdom it shall be performed. %%% Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Osaba ki? era kinaakukolerwa; era weegayirira ki? kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka. 17EST005.007 Then answered Esther, and said, My petition and my request is; %%% Awo Eseza n'addamu n'ayogera nti Kye nsaba era kye nneegayirira kye kino; 17EST005.008 If I have found favour in the sight of the king, and if it please the king to grant my petition, and to perform my request, let the king and Haman come to the banquet that I shall prepare for them, and I will do to morrow as the king hath said. %%% oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje eri embaga gye ndibafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye. 17EST005.009 Then went Haman forth that day joyful and with a glad heart: but when Haman saw Mordecai in the king's gate, that he stood not up, nor moved for him, he was full of indignation against Mordecai. %%% Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo: naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira so nga tamusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi. 17EST005.010 Nevertheless Haman refrained himself: and when he came home, he sent and called for his friends, and Zeresh his wife. %%% Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka; n'atuma n'aleeta mikwano gye ne Zeresi mukazi we. 17EST005.011 And Haman told them of the glory of his riches, and the multitude of his children, and all the things wherein the king had promoted him, and how he had advanced him above the princes and servants of the king. %%% Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe benkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be. 17EST005.012 Haman said moreover, Yea, Esther the queen did let no man come in with the king unto the banquet that she had prepared but myself; and to morrow am I invited unto her also with the king. %%% Era Kamani n'ayogera nti Weewaawo, Eseza kaddulubaale teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka eri embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka. 17EST005.013 Yet all this availeth me nothing, so long as I see Mordecai the Jew sitting at the king's gate. %%% Naye ebyo byonna tebiriiko kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng'atuula ku mulyango gwa kabaka. 17EST005.014 Then said Zeresh his wife and all his friends unto him, Let a gallows be made of fifty cubits high, and to morrow speak thou unto the king that Mordecai may be hanged thereon: then go thou in merrily with the king unto the banquet. And the thing pleased Haman; and he caused the gallows to be made. %%% Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano, enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo: kale olyoke oyingire ne kabaka eri embaga ng'osanyuka Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'asimbya ekitindiro. 17EST006.001 On that night could not the king sleep, and he commanded to bring the book of records of the chronicles; and they were read before the king. %%% Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okuleeta ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebya buli lunaku, ne babisomera mu maaso ga kabaka. 17EST006.002 And it was found written, that Mordecai had told of Bigthana and Teresh, two of the king's chamberlains, the keepers of the door, who sought to lay hand on the king Ahasuerus. %%% Awo ne basanga nga kiwandiikiddwa nga Moluddekaayi yabuulira ebigambo bya Bigusani ne Teresi, babiri ku balaawe ba kabaka ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okukwata kabaka Akaswero. 17EST006.003 And the king said, What honour and dignity hath been done to Mordecai for this? Then said the king's servants that ministered unto him, There is nothing done for him. %%% Awo kabaka n'ayogera nti Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo? Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Tewali kintu kyaweereddwa. 17EST006.004 And the king said, Who is in the court? Now Haman was come into the outward court of the king's house, to speak unto the king to hang Mordecai on the gallows that he had prepared for him. %%% Awo kabaka n'ayogera nti Ani ali mu luggya? Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw'ebweru olw'oku nnyumba ya labaka, okwogera ne kabaka okuwanika Moluddekaayi ku kitindiro kye yali amusimbidde. 17EST006.005 And the king's servants said unto him, Behold, Haman standeth in the court. And the king said, Let him come in. %%% Awo abaddu ba kabaka ne bamugamba nti Laba, Kamani ayimiridde mu luggya. Kabaka n’ayogera nti Ayingire. 17EST006.006 So Haman came in. And the king said unto him, What shall be done unto the man whom the king delighteth to honour? Now Haman thought in his heart, To whom would the king delight to do honour more than to myself? %%% Awo Kamani n'ayingira Kabaka n'amugamba nti Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa anaakolebwa ki? Awo Kamani n'ayogera mu mutima gwe nti Ani kabaka gwe yandisanyukidde okumussaamu ekitiibwa okukira nze? 17EST006.007 And Haman answered the king, For the man whom the king delighteth to honour, %%% Awo Kamani n'agamba kabaka nti Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, 17EST006.008 Let the royal apparel be brought which the king useth to wear, and the horse that the king rideth upon, and the crown royal which is set upon his head: %%% baleete ebyambalo bya kabaka, kabaka by'ayambala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala eri etikkirwako ku mutwe engule ey'obwakabaka; 17EST006.009 And let this apparel and horse be delivered to the hand of one of the king's most noble princes, that they may array the man withal whom the king delighteth to honour, and bring him on horseback through the street of the city, and proclaim before him, Thus shall it be done to the man whom the king delighteth to honour. %%% bawe ebyambalo n'embalaasi mu mukono gw'omu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze n'ebyo omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa. 17EST006.010 Then the king said to Haman, Make haste, and take the apparel and the horse, as thou hast said, and do even so to Mordecai the Jew, that sitteth at the king's gate: let nothing fail of all that thou hast spoken. %%% Awo kabaka n'agamba Kamani nti Yanguwa oddire ebyambalo n'embalaasi nga bw'oyogedde, okolere ddala bw'otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka: waleme okubulako n'ekimu ku ebyo byonna by'oyogedde. 17EST006.011 Then took Haman the apparel and the horse, and arrayed Mordecai, and brought him on horseback through the street of the city, and proclaimed before him, Thus shall it be done unto the man whom the king delighteth to honour. %%% Awo Kamani n'addira ebyambalo n'embalaasi, n'ayambaza Moluddekaayi, n'amwambaza okuyita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa. 17EST006.012 And Mordecai came again to the king's gate. But Haman hasted to his house mourning, and having his head covered. %%% Awo Moluddekaayi n'akomawo eri omulyango gwa kabaka. Naye Kamani n'ayanguwa n’agenda ewuwe, ng'anakuwadde era ng'abisse ku mutwe gwe. 17EST006.013 And Haman told Zeresh his wife and all his friends every thing that had befallen him. Then said his wise men and Zeresh his wife unto him, If Mordecai be of the seed of the Jews, before whom thou hast begun to fall, thou shalt not prevail against him, but shalt surely fall before him. %%% Awo Kamani n'abuulira Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebyamubaddeko. Awo abasajja be abagezi ne Zeresi mukazi we ne bamugamba nti Moluddekaayi gw'otanulidde okugwa mu maaso ge, oba nga wa ku zzadde lya Bayudaaya, tojja kumusinga, naye tolirema kugwa mu maaso ge. 17EST006.014 And while they were yet talking with him, came the king's chamberlains, and hasted to bring Haman unto the banquet that Esther had prepared. %%% Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba kabaka ne bajja, ne banguwa okuleeta Kamani eri embaga Eseza gye yali afumbye. 17EST007.001 So the king and Haman came to banquet with Esther the queen. %%% Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga wamu ne Eseza kaddulubaale. 17EST007.002 And the king said again unto Esther on the second day at the banquet of wine, What is thy petition, queen Esther? and it shall be granted thee: and what is thy request? and it shall be performed, even to the half of the kingdom. %%% Awo kabaka n'agamba nate Eseza ku lunaku olw'okubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Kiki ky'osaba, kaddulubaale Eseza, era onookiweebwa: era kiki kye weegayirira? ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka kinaatuukirizibwa. 17EST007.003 Then Esther the queen answered and said, If I have found favour in thy sight, O king, and if it please the king, let my life be given me at my petition, and my people at my request: %%% Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ai kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange olw'okusaba kwange, n'abantu bange olw'okwegayirira kwange: 17EST007.004 For we are sold, I and my people, to be destroyed, to be slain, and to perish. But if we had been sold for bondmen and bondwomen, I had held my tongue, although the enemy could not countervail the king's damage. %%% kubanga tutundiddwa, nze n'abantu bange okuzikirizibwa, okuttibwa n'okubula. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa. 17EST007.005 Then the king Ahasuerus answered and said unto Esther the queen, Who is he, and where is he, that durst presume in his heart to do so? %%% Awo kabaka Akaswero n'alyoka ayogera n'agamba Eseza kaddulubaale nti Ani era ali ludda wa ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo? 17EST007.006 And Esther said, The adversary and enemy is this wicked Haman. Then Haman was afraid before the king and the queen. %%% Awo Eseza n'ayogera nti Omulabe era, atukyawa, Kamani ono omubi. Awo Kamani n'atya mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale. 17EST007.007 And the king arising from the banquet of wine in his wrath went into the palace garden: and Haman stood up to make request for his life to Esther the queen; for he saw that there was evil determined against him by the king. %%% Awo kabaka n'agolokoka ng'aliko ekiruyi n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri: Kamani n'ayimirira okusaba obulamu bwe eri Eseza kaddulubaale; kubanga yalaba obubi kabaka bw'amuteeserezza. 17EST007.008 Then the king returned out of the palace garden into the place of the banquet of wine; and Haman was fallen upon the bed whereon Esther was. Then said the king, Will he force the queen also before me in the house? As the word went out of the king's mouth, they covered Haman's face. %%% Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti N'okukwata anaakwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba? Ekigambo nga kiva mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani. 17EST007.009 And Harbonah, one of the chamberlains, said before the king, Behold also, the gallows fifty cubits high, which Haman had made for Mordecai, who had spoken good for the king, standeth in the house of Haman. Then the king said, Hang him thereon. %%% Awo Kalubona, omu ku balasawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano Kamani kyakoledde Moluddekaayi, eyayogera olwa kabaka ebirungi, kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani. Kabaka n'ayogera nti Mumuwanike okwo. 17EST007.010 So they hanged Haman on the gallows that he had prepared for Mordecai. Then was the king's wrath pacified. %%% Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali asimbidde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana. 17EST008.001 On that day did the king Ahasuerus give the house of Haman the Jews' enemy unto Esther the queen. And Mordecai came before the king; for Esther had told what he was unto her. %%% Awo ku lunaku olwo kabaka Akaswero n'awa Eseza kaddulubaale ennyumba ya Kamani omulabe w'Abayudaaya. Awo Moluddekaayi n'ajja mu maaso ga kabaka; kubanga Eseza yali amubuulidde bwe yamuli. 17EST008.002 And the king took off his ring, which he had taken from Haman, and gave it unto Mordecai. And Esther set Mordecai over the house of Haman. %%% Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'aggye ku Kamani n'agiwa Moluddekaayi. Awo Eseza n'ateeka Moluddekaayi okuba omukulu w'ennyumba ya Kamani. 17EST008.003 And Esther spake yet again before the king, and fell down at his feet, and besought him with tears to put away the mischief of Haman the Agagite, and his device that he had devised against the Jews. %%% Awo Eseza n'ayogera nate olw'okubiri mu maaso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akaaba amaziga okuggyawo obubi bwa Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe lwe yali asalidde Abayudaaya. 17EST008.004 Then the king held out the golden sceptre toward Esther. So Esther arose, and stood before the king, %%% Awo kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu. Awo Eseza n'agolokoka n'ayimirira mu maaso ga kabaka. 17EST008.005 And said, If it please the king, and if I have found favour in his sight, and the thing seem right before the king, and I be pleasing in his eyes, let it be written to reverse the letters devised by Haman the son of Hammedatha the Agagite, which he wrote to destroy the Jews which are in all the king's provinces: %%% N'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu manso ge, n'ekigambo ekyo bwe kinaafaanana eky'ensonga mu maaso ga kabaka, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yateesa, ze yawandiika okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka: 17EST008.006 For how can I endure to see the evil that shall come unto my people? or how can I endure to see the destruction of my kindred? %%% kubanga nnyinza ntya okugumiikiriza okutunuulira obubi obulijja ku bantu bange? oba nnyinza ntya okugumiikiriza, okutunuulira baganda bange nga babazikiriza? 17EST008.007 Then the king Ahasuerus said unto Esther the queen and to Mordecai the Jew, Behold, I have given Esther the house of Haman, and him they have hanged upon the gallows, because he laid his hand upon the Jews. %%% Awo kabaka Akaswero n'agamba Eseza kaddulubaale ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti Laba, mpadde Eseza ennyumba ya Kamani, naye bamuwanise ku kitindiro, kubanga yateeka omukono gwe ku Bayudaaya. 17EST008.008 Write ye also for the Jews, as it liketh you, in the king's name, and seal it with the king's ring: for the writing which is written in the king's name, and sealed with the king's ring, may no man reverse. %%% Era muwandiikire n'Abayudaaya, nga bwe musiima, mu linnya lya kabaka, mugisseeko akabonero n'empeta ya kabaka kubanga ekiwandiike ekiwandiikiddwa mu linnya lya kabaka era ekiteekeddwako akabonero n'empeta ya kabaka, tewali muntu ayinza okukijjulula. 17EST008.009 Then were the king's scribes called at that time in the third month, that is, the month Sivan, on the three and twentieth day thereof; and it was written according to all that Mordecai commanded unto the Jews, and to the lieutenants, and the deputies and rulers of the provinces which are from India unto Ethiopia, an hundred twenty and seven provinces, unto every province according to the writing thereof, and unto every people after their language, and to the Jews according to their writing, and acco %%% Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'okusatu, gwe mwezi Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'amakumi abiri mu ssatu; era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu, eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali. 17EST008.010 And he wrote in the king Ahasuerus' name, and sealed it with the king's ring, and sent letters by posts on horseback, and riders on mules, camels, and young dromedaries: %%% Era n'awandiika mu linnya lya kabaka Akaswero n'agissaako akabonero n'empeta ya kabaka n'aweereza ebbaluwa ezitwalibwa ababaka abeebagala embalaasi, abeebagadde ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka, ebyazaalibwa mu bisibo bya kabaka: 17EST008.011 Wherein the king granted the Jews which were in every city to gather themselves together, and to stand for their life, to destroy, to slay, and to cause to perish, all the power of the people and province that would assault them, both little ones and women, and to take the spoil of them for a prey, %%% era mu ezo kabaka n'alagira Abayudaaya abaali mu buli kibuga okukuŋŋaana n'okwesibira obulamu bwabwe okuzikiriza, okutta, n'okumalawo obuyinza bwonna obw'abantu n'essaza abaagala okubalumba, abaana baabwe abato ne bakazi baabwe, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo, 17EST008.012 Upon one day in all the provinces of king Ahasuerus, namely, upon the thirteenth day of the twelfth month, which is the month Adar. %%% ku lunaku lumu mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali. 17EST008.013 The copy of the writing for a commandment to be given in every province was published unto all people, and that the Jews should be ready against that day to avenge themselves on their enemies. %%% Awo ne balaalika amawanga gonna ebyaggibwa ku kiwandiike, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunaku olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe. 17EST008.014 So the posts that rode upon mules and camels went out, being hastened and pressed on by the king's commandment. And the decree was given at Shushan the palace. %%% Awo ababaka abeebagala ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka ne bagenda, ekiragiro kya kabaka nga kibakubiriza era nga kibanguya; awo ekiragiro ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani. 17EST008.015 And Mordecai went out from the presence of the king in royal apparel of blue and white, and with a great crown of gold, and with a garment of fine linen and purple: and the city of Shushan rejoiced and was glad. %%% Awo Moluddekaayi n'afuluma mu maaso ga kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikkidde engule ennene eya zaabu, era ng'ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu: awo ekibuga Susani ne kyogerera waggulu ne kisanyuka. 17EST008.016 The Jews had light, and gladness, and joy, and honour. %%% Awo Abayudaaya ne baba n'omusana n'essanyu, n'okujaguza n’ekitiibwa. 17EST008.017 And in every province, and in every city, whithersoever the king's commandment and his decree came, the Jews had joy and gladness, a feast and a good day. And many of the people of the land became Jews; for the fear of the Jews fell upon them. %%% Awo mu buli ssaza ne mu buli kibuga, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga, Abayudaaya ne baba n'essanyu n'okujaguza, embaga n'olunaku olulungi. Kale bangi ab'omu mawanga ag'omu nsi ne bafuuka Abayudaaya; kubanga entiisa ey'Abayudaaya yali ebaguddeko. 17EST009.001 Now in the twelfth month, that is, the month Adar, on the thirteenth day of the same, when the king's commandment and his decree drew near to be put in execution, in the day that the enemies of the Jews hoped to have power over them, (though it was turned to the contrary, that the Jews had rule over them that hated them;) %%% Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa; 17EST009.002 The Jews gathered themselves together in their cities throughout all the provinces of the king Ahasuerus, to lay hand on such as sought their hurt: and no man could withstand them; for the fear of them fell upon all people. %%% awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi: so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna. 17EST009.003 And all the rulers of the provinces, and the lieutenants, and the deputies, and officers of the king, helped the Jews; because the fear of Mordecai fell upon them. %%% Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko. 17EST009.004 For Mordecai was great in the king's house, and his fame went out throughout all the provinces: for this man Mordecai waxed greater and greater. %%% Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna: kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga. 17EST009.005 Thus the Jews smote all their enemies with the stroke of the sword, and slaughter, and destruction, and did what they would unto those that hated them. %%% Awo Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna nga babakuba n'ekitala, nga babazikiriza nga babamalawo, ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa. 17EST009.006 And in Shushan the palace the Jews slew and destroyed five hundred men. %%% Ne mu lubiri lw'e Susani Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano. 17EST009.007 And Parshandatha, and Dalphon, and Aspatha, %%% Awo Palusandasa ne Dalufoni ne Asupasa 17EST009.008 And Poratha, and Adalia, and Aridatha, %%% ne Polasa ne Adaliya ne Alidasa 17EST009.009 And Parmashta, and Arisai, and Aridai, and Vajezatha, %%% ne Palumasuta ne Alisayi ne Alidayi ne Vaizasa, 17EST009.010 The ten sons of Haman the son of Hammedatha, the enemy of the Jews, slew they; but on the spoil laid they not their hand. %%% batabani ba Kamani ekkumi mutabani wa Kammedasa omulabe w'Abayudaaya ne babatta; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago. 17EST009.011 On that day the number of those that were slain in Shushan the palace was brought before the king. %%% Ku lunaku olwo omuwendo gw'abo abattirwa mu lubiri lw'e Susani ne guleetebwa mu maaso ga kabaka. 17EST009.012 And the king said unto Esther the queen, The Jews have slain and destroyed five hundred men in Shushan the palace, and the ten sons of Haman; what have they done in the rest of the king's provinces? now what is thy petition? and it shall be granted thee: or what is thy request further? and it shall be done. %%% Awo kabaka n'agamba Eseza kaddulubaale nti Abayudaaya basse bazikirizza abasajja ebikumi bitaano mu lubiri w’e Susani ne batabani ba Kamani ekkumi; kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? era onookiweebwa: oba kiki kye weegayirira nate? era kinaakolebwa. 17EST009.013 Then said Esther, If it please the king, let it be granted to the Jews which are in Shushan to do to morrow also according unto this day's decree, and let Haman's ten sons be hanged upon the gallows. %%% Awo Eseza n'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani baweebwe okukola n'enkya ng'ekiragiro ekya leero bwe kibadde, era batabani ba Kamani ekkumi bawanikibwe ku kitindiro. 17EST009.014 And the king commanded it so to be done: and the decree was given at Shushan; and they hanged Haman's ten sons. %%% Awo kabaka n'alagira bakole bwe batyo: kale ne balangirira etteeka mu Susani; ne bawanika batabani ba Kamani ekkumi. 17EST009.015 For the Jews that were in Shushan gathered themselves together on the fourteenth day also of the month Adar, and slew three hundred men at Shushan; but on the prey they laid not their hand. %%% Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago. 17EST009.016 But the other Jews that were in the king's provinces gathered themselves together, and stood for their lives, and had rest from their enemies, and slew of their foes seventy and five thousand, but they laid not their hands on the prey, %%% Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana ne beesibira obulamu bwabwe, ne baba n'okuwummula eri abalabe baabwe, ne batta ku bo abaabakyawa obukumi musanvu mu enkumi ttaano; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago. 17EST009.017 On the thirteenth day of the month Adar; and on the fourteenth day of the same rested they, and made it a day of feasting and gladness. %%% Ebyo byabaawo ku lunaku lw'ekkumi n'essatu olw'omwezi Adali; ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ennya ne bawummula; ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako. 17EST009.018 But the Jews that were at Shushan assembled together on the thirteenth day thereof, and on the fourteenth thereof; and on the fifteenth day of the same they rested, and made it a day of feasting and gladness. %%% Naye Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'enya; ne ku lunaku lwagwo w'ekkumi n'ettaano ne bawummula ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako. 17EST009.019 Therefore the Jews of the villages, that dwelt in the unwalled towns, made the fourteenth day of the month Adar a day of gladness and feasting, and a good day, and of sending portions one to another. %%% Abayudaaya ab'omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga era olunaku olulungi era olw'okuweerezaganirako emigabo. 17EST009.020 And Mordecai wrote these things, and sent letters unto all the Jews that were in all the provinces of the king Ahasuerus, both nigh and far, %%% Awo Moluddekaayi n'awandiika ebyo, n'aweereza ebbaluwa Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala, 17EST009.021 To stablish this among them, that they should keep the fourteenth day of the month Adar, and the fifteenth day of the same, yearly, %%% okubalagira okukwatanga olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, n'olunaku lwagwo olw'ekkumi n'ettaano, buli mwaka, 17EST009.022 As the days wherein the Jews rested from their enemies, and the month which was turned unto them from sorrow to joy, and from mourning into a good day: that they should make them days of feasting and joy, and of sending portions one to another, and gifts to the poor. %%% nga ze nnaku Abayudaaya kwe baafunira okuwummula eri abalabe baabwe, n'omwezi ogwabafuukira ogw'essanyu okuva mu buyinike, era olunaku olulungi okuva mu kunakuwala: bazifuulenga ennaku ez'okuliirangako embaga n'ez'okusanyukirangako n'ez'okuweerezaganirangako emigabo n'ez'okuweererezangako abaavu ebirabo. 17EST009.023 And the Jews undertook to do as they had begun, and as Mordecai had written unto them; %%% Awo Abayudaaya ne basuubiza okukolanga nga bwe baatanula, era nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira; 17EST009.024 Because Haman the son of Hammedatha, the Agagite, the enemy of all the Jews, had devised against the Jews to destroy them, and had cast Pur, that is, the lot, to consume them, and to destroy them; %%% kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza eri Abayudaaya okubazikiriza, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza; 17EST009.025 But when Esther came before the king, he commanded by letters that his wicked device, which he devised against the Jews, should return upon his own head, and that he and his sons should be hanged on the gallows. %%% naye ekigambo bwe kyatuuka mu maaso ga kabaka n'alagiririra mu bbaluwa olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro. 17EST009.026 Wherefore they called these days Purim after the name of Pur. Therefore for all the words of this letter, and of that which they had seen concerning this matter, and which had come unto them, %%% Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng'erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw'ebigambo byonna eby'omu bbaluwa eno n'olw'ebyo bye baalaba mu kigambo ekyo n'ekyo ekyababaako, 17EST009.027 The Jews ordained, and took upon them, and upon their seed, and upon all such as joined themselves unto them, so as it should not fail, that they would keep these two days according to their writing, and according to their appointed time every year; %%% Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza ne basuubiriza ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiike kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka; 17EST009.028 And that these days should be remembered and kept throughout every generation, every family, every province, and every city; and that these days of Purim should not fail from among the Jews, nor the memorial of them perish from their seed. %%% era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo okubuna emirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okubula eri ezzadde lyabwe. 17EST009.029 Then Esther the queen, the daughter of Abihail, and Mordecai the Jew, wrote with all authority, to confirm this second letter of Purim. %%% Awo Eseza kaddulubaale muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n'obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo ey'okubiri eya Pulimu. 17EST009.030 And he sent the letters unto all the Jews, to the hundred twenty and seven provinces of the kingdom of Ahasuerus, with words of peace and truth, %%% N'aweereza Abayudaaya bonna ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu amakumi abiri mu musanvu ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga zirimu ebigambo eby'emirembe n'amazima, 17EST009.031 To confirm these days of Purim in their times appointed, according as Mordecai the Jew and Esther the queen had enjoined them, and as they had decreed for themselves and for their seed, the matters of the fastings and their cry. %%% okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Eseza kaddulubaale bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe. 17EST009.032 And the decree of Esther confirmed these matters of Purim; and it was written in the book. %%% Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu; ne kiwandiikibwa mu kitabo. 17EST010.001 And the king Ahasuerus laid a tribute upon the land, and upon the isles of the sea. %%% Awo kabaka Akaswero n'asalira ensi omusolo, n'ebizinga eby'omu nnyanja. 17EST010.002 And all the acts of his power and of his might, and the declaration of the greatness of Mordecai, whereunto the king advanced him, are they not written in the book of the chronicles of the kings of Media and Persia? %%% Era ebikolwa byonna eby'obuyinza bwe n'amaanyi ge n'okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi bwe bwenkana, kabaka bwe yamukuza, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka b'e Bumeedi n'e Buperusi? 17EST010.003 For Mordecai the Jew was next unto king Ahasuerus, and great among the Jews, and accepted of the multitude of his brethren, seeking the wealth of his people, and speaking peace to all his seed. %%% Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya yaddirira kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era yakkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagala okukola abantu be obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe. 18JOB001.001 There was a man in the land of Uz, whose name was Job; and that man was perfect and upright, and one that feared God, and eschewed evil. %%% Waaliwo omusajja mu nsi Uzzi, erinnya lye Yobu; era omusajja oyo yatuukirira era nga wa mazima, era ng'atya Katonda ne yeewalanga obubi. 18JOB001.002 And there were born unto him seven sons and three daughters. %%% N'azaalirwa abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu. 18JOB001.003 His substance also was seven thousand sheep, and three thousand camels, and five hundred yoke of oxen, and five hundred she asses, and a very great household; so that this man was the greatest of all the men of the east. %%% Era ebintu bye byali endiga kasanvu n'eŋŋamira enkumi ssatu n'emigogo gy'ente ebikumi bitaano n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano n'abaddu bangi nnyo nnyini; omusajja oyo n'aba mukulu okusinga abaana bonna ab'ebuvanjuba. 18JOB001.004 And his sons went and feasted in their houses, every one his day; and sent and called for their three sisters to eat and to drink with them. %%% Batabani be ne bagendanga ne bafumba embaga mu nnyumlia ya buli muntu ku lunaku lwe; ne batumanga ne bayitanga bannyinaabwe abasatu okulya n'okunywa nabo. 18JOB001.005 And it was so, when the days of their feasting were gone about, that Job sent and sanctified them, and rose up early in the morning, and offered burnt offerings according to the number of them all: for Job said, It may be that my sons have sinned, and cursed God in their hearts. Thus did Job continually. %%% Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaayitawo, Yobu n'atumanga n'abatukuzanga n'agolokokanga enkya mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng'omuwendo gwabwe bonna bwe gwali: kubanga Yobu yayogera nti Mpozzi batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe. Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata. 18JOB001.006 Now there was a day when the sons of God came to present themselves before the LORD, and Satan came also among them. %%% Awo olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo. 18JOB001.007 And the LORD said unto Satan, Whence comest thou? Then Satan answered the LORD, and said, From going to and fro in the earth, and from walking up and down in it. %%% Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Awo, Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi. 18JOB001.008 And the LORD said unto Satan, Hast thou considered my servant Job, that there is none like him in the earth, a perfect and an upright man, one that feareth God, and escheweth evil? %%% Mukama n’agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: 18JOB001.009 Then Satan answered the LORD, and said, Doth Job fear God for nought? %%% Awo Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Yobu atiira bwereere Katonda? 18JOB001.010 Hast not thou made an hedge about him, and about his house, and about all that he hath on every side? thou hast blessed the work of his hands, and his substance is increased in the land. %%% Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n'ennyumba ye ne byonna by'alina, enjuyi zonna? owadde omukisa omulimu gw'engalo ze, n'ebintu bye byaze mu nsi: 18JOB001.011 But put forth thine hand now, and touch all that he hath, and he will curse thee to thy face. %%% Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by'alina, kale alikwegaanira mu maaso go. 18JOB001.012 And the LORD said unto Satan, Behold, all that he hath is in thy power; only upon himself put not forth thine hand. So Satan went forth from the presence of the LORD. %%% Mukama n'agamba Setaani nti Laba, byonna by'alina biri mu mukono gwo; kyokka ku ye yennyini togolola mukono gwo, Awo Setaani n'ava awali Mukama. 18JOB001.013 And there was a day when his sons and his daughters were eating and drinking wine in their eldest brother's house: %%% Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala be bwe, baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, 18JOB001.014 And there came a messenger unto Job, and said, The oxen were plowing, and the asses feeding beside them: %%% omubaka n'ajja, eri Yobu n'ayogera nti Ente zibadde nga zirima, n'endogoyi nga ziziriraanye nga zirya; 18JOB001.015 And the Sabeans fell upon them, and took them away; yea, they have slain the servants with the edge of the sword; and I only am escaped alone to tell thee. %%% Abaseba ne bazigwako ne bazitwala; weewaawo, basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira. 18JOB001.016 While he was yet speaking, there came also another, and said, The fire of God is fallen from heaven, and hath burned up the sheep, and the servants, and consumed them; and I only am escaped alone to tell thee. %%% Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira. 18JOB001.017 While he was yet speaking, there came also another, and said, The Chaldeans made out three bands, and fell upon the camels, and have carried them away, yea, and slain the servants with the edge of the sword; and I only am escaped alone to tell thee. %%% Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Abakaludaaya beefudde ebibiina bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira, era bazitutte, weewaawo, era basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira: 18JOB001.018 While he was yet speaking, there came also another, and said, Thy sons and thy daughters were eating and drinking wine in their eldest brother's house: %%% Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Batabani bo ne bawala bo baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu: 18JOB001.019 And, behold, there came a great wind from the wilderness, and smote the four corners of the house, and it fell upon the young men, and they are dead; and I only am escaped alone to tell thee. %%% kale, laba, embuyaga nnyingi ne zijja nga ziva mu ddungu, ne zikuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'egwa ku balenzi, era bafudde; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira: 18JOB001.020 Then Job arose, and rent his mantle, and shaved his head, and fell down upon the ground, and worshipped, %%% Awo Yobu n'agolokoka n'ayuza omunagiro gwe n'amwa omutwe n'avuunama ku ttaka n'asinza; 18JOB001.021 And said, Naked came I out of my mother's womb, and naked shall I return thither: the LORD gave, and the LORD hath taken away; blessed be the name of the LORD. %%% n'ayogera nti Nava mu lubuto lwa mmange nga ndi mwereere, era ndiddayo nga ndi mwereere: Mukama ye yawa, era Mukama ye aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe. 18JOB001.022 In all this Job sinned not, nor charged God foolishly. %%% Mu ebyo byonna Yobu teyayonoonanga, so teyavuma Katonda busirusiru. 18JOB002.001 Again there was a day when the sons of God came to present themselves before the LORD, and Satan came also among them to present himself before the LORD. %%% Awo nate olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama. 18JOB002.002 And the LORD said unto Satan, From whence comest thou? And Satan answered the LORD, and said, From going to and fro in the earth, and from walking up and down in it. %%% Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo wano ne wali. 18JOB002.003 And the LORD said unto Satan, Hast thou considered my servant Job, that there is none like him in the earth, a perfect and an upright man, one that feareth God, and escheweth evil? and still he holdeth fast his integrity, although thou movedst me against him, to destroy him without cause. %%% Mukama n'agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wasaakiriza gy'ali, okumuzikiririza obwereere. 18JOB002.004 And Satan answered the LORD, and said, Skin for skin, yea, all that a man hath will he give for his life. %%% Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe. 18JOB002.005 But put forth thine hand now, and touch his bone and his flesh, and he will curse thee to thy face. %%% Naye kaakano golola omukono gwo, okome ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go. 18JOB002.006 And the LORD said unto Satan, Behold, he is in thine hand; but save his life. %%% Mukama n'agamba Setaani nti Laba, ali mu mukono gwo; kyokka mulekere obulamu bwe. 18JOB002.007 So went Satan forth from the presence of the LORD, and smote Job with sore boils from the sole of his foot unto his crown. %%% Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe. 18JOB002.008 And he took him a potsherd to scrape himself withal; and he sat down among the ashes. %%% N'addiranga olugyo okweyaguza; n'atuulanga mu vvu. 18JOB002.009 Then said his wife unto him, Dost thou still retain thine integrity? curse God, and die. %%% Awo mukazi we n'amugamba nti Okyanyweza obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe. 18JOB002.010 But he said unto her, Thou speakest as one of the foolish women speaketh. What? shall we receive good at the hand of God, and shall we not receive evil? In all this did not Job sin with his lips. %%% Naye n'amugamba nti Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! Tunaaweebwanga ebirungi mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibi? mu ebyo byonna Yobu teyayonoona na mimwa gye. 18JOB002.011 Now when Job's three friends heard of all this evil that was come upon him, they came every one from his own place; Eliphaz the Temanite, and Bildad the Shuhite, and Zophar the Naamathite: for they had made an appointment together to come to mourn with him and to comfort him. %%% Awo mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne bajja buli muntu ng'ava mu kifo kye ye; Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi: ne balagaana wamu okujja okumukaabirako n'okumukubagiza. 18JOB002.012 And when they lifted up their eyes afar off, and knew him not, they lifted up their voice, and wept; and they rent every one his mantle, and sprinkled dust upon their heads toward heaven. %%% Awo bwe baayimusa amaaso gaabwe, nga bakyali wala ne batamumanya ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba; ne bayuza buli muntu omunagiro gwe, ne bafuumuulira enfuufu ku mitwe gyabwe eri ggulu. 18JOB002.013 So they sat down with him upon the ground seven days and seven nights, and none spake a word unto him: for they saw that his grief was very great. %%% Awo ne batuula wamu naye ku ttaka ne bamala ennaku musanvu emisana n'ekiro, ne wataba amugamba kigambo: kubanga baalaba ennaku ze nga nnyingi nnyo. 18JOB003.001 After this opened Job his mouth, and cursed his day. %%% Awo Yobu n'alyoka ayasama akamwa n'akolimira olunaku lwe: 18JOB003.002 And Job spake, and said, %%% Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB003.003 Let the day perish wherein I was born, and the night in which it was said, There is a man child conceived. %%% Olunaku lukolimirwe kwe nnazaalirwa, N'ekiro ekyayogera nti Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto. 18JOB003.004 Let that day be darkness; let not God regard it from above, neither let the light shine upon it. %%% Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda aleme okulutunuulira ng'ayima waggulu, So n'omusana guleme okulwakira. 18JOB003.005 Let darkness and the shadow of death stain it; let a cloud dwell upon it; let the blackness of the day terrify it. %%% Ekizikiza n'ekisiikirize eky'okufa biruyite olw'abyo; Ekire kirutuuleko: Byonna ebiddugaza obudde birutiise. 18JOB003.006 As for that night, let darkness seize upon it; let it not be joined unto the days of the year, let it not come into the number of the months. %%% Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikinyage: So luleme okusanyukira mu nnaku ez'omu mwaka; Luleme okutuuka mu muwendo gw'emyezi. 18JOB003.007 Lo, let that night be solitary, let no joyful voice come therein. %%% Laba, ekiro ekyo kibe kigumba; Luleme okujjirwa eddoboozi ery'essanyu. 18JOB003.008 Let them curse it that curse the day, who are ready to raise up their mourning. %%% Abo balukolimire abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya. 18JOB003.009 Let the stars of the twilight thereof be dark; let it look for light, but have none; neither let it see the dawning of the day: %%% Emmunyeenye ez'ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza: Lunoonye omusana, naye lugubulwe; So terutunuulira bikowe bya nkya: 18JOB003.010 Because it shut not up the doors of my mother's womb, nor hid sorrow from mine eyes. %%% Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange. So terwakisa maaso gange obuyinike. 18JOB003.011 Why died I not from the womb? why did I not give up the ghost when I came out of the belly? %%% Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto? Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda? 18JOB003.012 Why did the knees prevent me? or why the breasts that I should suck? %%% Amaviivi ganzikiririza ki? Oba amabeere, okugayonka? 18JOB003.013 For now should I have lain still and been quiet, I should have slept: then had I been at rest, %%% Kubanga kaakano nandigalamidde ne nsirika; Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde: 18JOB003.014 With kings and counsellors of the earth, which built desolate places for themselves; %%% Wamu ne bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira mu matongo; 18JOB003.015 Or with princes that had gold, who filled their houses with silver: %%% Oba wamu n'abalangira abaalina ezaabu, Abajjuzanga ennyumba zaabwe effeeza: 18JOB003.016 Or as an hidden untimely birth I had not been; as infants which never saw light. %%% Oba ng'omwana omusowole akwekebwa sandibaddewo; Ng'abaana abawere abatalabanga ku musana n'akatono. 18JOB003.017 There the wicked cease from troubling; and there the weary be at rest. %%% Eyo ababi bakoma okuteganya; Era eyo abakoowu gye bawummulira. 18JOB003.018 There the prisoners rest together; they hear not the voice of the oppressor. %%% Eyo abasibe gye bessiza awamu; Tebawulira ddoboozi lya mukoza. 18JOB003.019 The small and great are there; and the servant is free from his master. %%% Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu aba wa ddembe eri mukama we. 18JOB003.020 Wherefore is light given to him that is in misery, and life unto the bitter in soul; %%% Alaba obuyinike aweerwa ki omusana? N'obulamu abuweerwa ki oyo alumiddwa omwoyo; 18JOB003.021 Which long for death, but it cometh not; and dig for it more than for hid treasures; %%% Abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakusima okusinga obugagga obukwekeddwa; 18JOB003.022 Which rejoice exceedingly, and are glad, when they can find the grave? %%% Abasanyuka ennyo nnyini, Ne bajaguza, bwe bayinza okulaba entaana? 18JOB003.023 Why is light given to a man whose way is hid, and whom God hath hedged in? %%% Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda gw'akomedde olukomera? 18JOB003.024 For my sighing cometh before I eat, and my roarings are poured out like the waters. %%% Kubanga okusinda kwange kujja nga sinnalya, N'okuwuluguma kwange kufukibwa ng'amazzi. 18JOB003.025 For the thing which I greatly feared is come upon me, and that which I was afraid of is come unto me. %%% Kubanga kye ntidde kinjijako, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi. 18JOB003.026 I was not in safety, neither had I rest, neither was I quiet; yet trouble came. %%% Sessa so sitereera so siwummula; Naye ennaku zijja. 18JOB004.001 Then Eliphaz the Temanite answered and said, %%% Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti 18JOB004.002 If we assay to commune with thee, wilt thou be grieved? but who can withhold himself from speaking? %%% Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okuzibiikiriza obutayogera? 18JOB004.003 Behold, thou hast instructed many, and thou hast strengthened the weak hands. %%% Laba, wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu. 18JOB004.004 Thy words have upholden him that was falling, and thou hast strengthened the feeble knees. %%% Ebigambo byo byamuwaniriranga oyo eyali agudde, Era wawanga amaanyi amaviivi agaddirira. 18JOB004.005 But now it is come upon thee, and thou faintest; it toucheth thee, and thou art troubled. %%% Naye kaakano kituuse gy'oli n'ozirika; Kikukomako ne weeraliikirira. 18JOB004.006 Is not this thy fear, thy confidence, thy hope, and the uprightness of thy ways? %%% Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo, N'amakubo go amagolokofu si kwe kusuubira kwo? 18JOB004.007 Remember, I pray thee, who ever perished, being innocent? or where were the righteous cut off? %%% Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali abuze nga taliiko musango? Oba abatuukirivu baali bamaliddwawo wa? 18JOB004.008 Even as I have seen, they that plow iniquity, and sow wickedness, reap the same. %%% Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu, Ne basiga obuyinike, era bye bakungula. 18JOB004.009 By the blast of God they perish, and by the breath of his nostrils are they consumed. %%% Bazikirira olw'omukka gwa Katonda, Era bamalibwawo olw'okuwuuma kw'obusungu bwe. 18JOB004.010 The roaring of the lion, and the voice of the fierce lion, and the teeth of the young lions, are broken. %%% Okuwuluguma kw'empologoma n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe, N'amannyo g'empologoma ento gamenyeka. 18JOB004.011 The old lion perisheth for lack of prey, and the stout lion's whelps are scattered abroad. %%% Empologoma enkulu efa omuyiggo nga gugibuze, N'abaana b'empologoma ne basaasaana. 18JOB004.012 Now a thing was secretly brought to me, and mine ear received a little thereof. %%% Kale ekigambo kyandeeterwa kyama, N'okutu kwange ne kutoola okuwuuma kwakyo. 18JOB004.013 In thoughts from the visions of the night, when deep sleep falleth on men, %%% Mu kulowooza okuva mu kwolesebwa okw'ekiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu. 18JOB004.014 Fear came upon me, and trembling, which made all my bones to shake. %%% Entiisa n'enkwata n'okukankana, Amagumba gange gonna n'okunyegenya ne ganyegenya. 18JOB004.015 Then a spirit passed before my face; the hair of my flesh stood up: %%% Awo omwoyo ne guyita ku maaso gange; Enviiri ez'omubiri gwange ne zinva ku mutwe. 18JOB004.016 It stood still, but I could not discern the form thereof: an image was before mine eyes, there was silence, and I heard a voice, saying, %%% Gwayimirira buyimirizi, naye ne siyinza kwetegereza bwe gufaanana; Ekifaananyi kyali mu maaso gange: Waaliwo okusirika, ne mpulira eddoboozi eryogera nti 18JOB004.017 Shall mortal man be more just than God? shall a man be more pure than his maker? %%% Omuntu afa alisinga Katonda obutuukirivu? Omuntu aliba mulongoofu okukira eyamukola? 18JOB004.018 Behold, he put no trust in his servants; and his angels he charged with folly: %%% Laba, teyeesiga baddu be; Ne bamalayika be abalanga obusirusiru: 18JOB004.019 How much less in them that dwell in houses of clay, whose foundation is in the dust, which are crushed before the moth? %%% T'alisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala, Omusingi gwabwe guli mu nfuufu, Ababetentebwa okusooka ekiwojjolo! 18JOB004.020 They are destroyed from morning to evening: they perish for ever without any regarding it. %%% Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo. 18JOB004.021 Doth not their excellency which is in them go away? they die, even without wisdom. %%% Omugwa gwabwe ogw'eweema tegusimbulwa munda yaabwe? Bafa, era awatali magezi. 18JOB005.001 Call now, if there be any that will answer thee; and to which of the saints wilt thou turn? %%% Koowoola nno; waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira? 18JOB005.002 For wrath killeth the foolish man, and envy slayeth the silly one. %%% Kubanga okweralirira kutta omusirusiru, Nobuggya butta atalina magezi. 18JOB005.003 I have seen the foolish taking root: but suddenly I cursed his habitation. %%% Nalaba omusirusiru ng'asimba emmizi: Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu. 18JOB005.004 His children are far from safety, and they are crushed in the gate, neither is there any to deliver them. %%% Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, So tewali wa kubawonya. 18JOB005.005 Whose harvest the hungry eateth up, and taketh it even out of the thorns, and the robber swalloweth up their substance. %%% Omwaka gwabwe omuyala agulya, N'aguggya ne mu maggwa, N'omutego guwankirawankira ebintu byabwe. 18JOB005.006 Although affliction cometh not forth of the dust, neither doth trouble spring out of the ground; %%% Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nfuufu, So n'obuyinike tebuva mu ttaka; 18JOB005.007 Yet man is born unto trouble, as the sparks fly upward. %%% Naye abantu bazaalirwa obuyinike, Ng'ensasi bwe zibuuka waggulu. 18JOB005.008 I would seek unto God, and unto God would I commit my cause: %%% Naye nze, njagala okunoonya Katonda, Era njagala okulekera Katonda ensonga yange: 18JOB005.009 Which doeth great things and unsearchable; marvellous things without number: %%% Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Eby'ekitalo ebitabalika: 18JOB005.010 Who giveth rain upon the earth, and sendeth waters upon the fields: %%% Atonnyesa enkuba ku nsi, N'asindika amazzi ku nnimiro: 18JOB005.011 To set up on high those that be low; that those which mourn may be exalted to safety. %%% Awo n'agulumiza abo abatoowazibwa; N'abo abali mu nnaku ne basitulibwa ne baba mirembe. 18JOB005.012 He disappointeth the devices of the crafty, so that their hands cannot perform their enterprise. %%% Atta enkwe ez'abagerengetanya, Emikono gyabwe ne gitayinza kutuukiriza bye batandise. 18JOB005.013 He taketh the wise in their own craftiness: and the counsel of the froward is carried headlong. %%% Akwasa abagezi olukwe lwabwe bo: N'okuteesa kw'ab'ekyejo kumenyekera ddala. 18JOB005.014 They meet with darkness in the day time, and grope in the noonday as in the night. %%% Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro. 18JOB005.015 But he saveth the poor from the sword, from their mouth, and from the hand of the mighty. %%% Naye alokola mu kitala eky'akamwa kaabwe, Alokola eyeetaaga mu mukono gw'ow'amaanyi. 18JOB005.016 So the poor hath hope, and iniquity stoppeth her mouth. %%% Kale omwavu n'aba n'okusuubira, Obutali butuukirivu ne buziba akamwa kaabwo. 18JOB005.017 Behold, happy is the man whom God correcteth: therefore despise not thou the chastening of the Almighty: %%% Laba aweereddwa mukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kubuulirira kw'Omuyinza w'ebitu byonna. 18JOB005.018 For he maketh sore, and bindeth up: he woundeth, and his hands make whole. %%% Kubanga ye alumya era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze z'eziwonya. 18JOB005.019 He shall deliver thee in six troubles: yea, in seven there shall no evil touch thee. %%% Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, mu musanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako. 18JOB005.020 In famine he shall redeem thee from death: and in war from the power of the sword. %%% Mu njala anaakununulanga obutafa; Ne mu ntalo anaakuwonyanga mu maanyi g'ekitala. 18JOB005.021 Thou shalt be hid from the scourge of the tongue: neither shalt thou be afraid of destruction when it cometh. %%% Onookwekebwanga awali okubambula kw'olulimi; So tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga. 18JOB005.022 At destruction and famine thou shalt laugh: neither shalt thou be afraid of the beasts of the earth. %%% Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; So tootyenga nsolo za ku nsi. 18JOB005.023 For thou shalt be in league with the stones of the field: and the beasts of the field shall be at peace with thee. %%% Kubanga onoolagaananga endagaano n'amayinja ag'omu ttale; N'ensolo ez'omu nsiko zinaabanga n'emirembe gy'oli. 18JOB005.024 And thou shalt know that thy tabernacle shall be in peace; and thou shalt visit thy habitation, and shalt not sin. %%% Era onoomanyanga ng'eweema yo eri mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo n'otobulwa kintu. 18JOB005.025 Thou shalt know also that thy seed shall be great, and thine offspring as the grass of the earth. %%% Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo linaabanga kkulu. N'enda yo ng'omuddo ogw'ettale. 18JOB005.026 Thou shalt come to thy grave in a full age, like as a shock of corn cometh in in his season. %%% Olituuka mu ntaana yo ng'owezezza emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kijja mu ntuuko zaakyo. 18JOB005.027 Lo this, we have searched it, so it is; hear it, and know thou it for thy good. %%% Laba, ekyo twakikenneenya, bwe kiri bwe kityo. Kiwulire okimanye olyoke obeere bulungi. 18JOB006.001 But Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB006.002 Oh that my grief were throughly weighed, and my calamity laid in the balances together! %%% Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku zange singa ziteekeddwa mu minzaani wamu! 18JOB006.003 For now it would be heavier than the sand of the sea: therefore my words are swallowed up. %%% Kubanga kaakano zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja: Ebigambo byange kye bivudde bibeera eby'okwanguyiriza. 18JOB006.004 For the arrows of the Almighty are within me, the poison whereof drinketh up my spirit: the terrors of God do set themselves in array against me. %%% Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna buli munda yange, N'obusagwa bwabwo omwoyo gwange gubunywa: Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange. 18JOB006.005 Doth the wild ass bray when he hath grass? or loweth the ox over his fodder? %%% Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo? 18JOB006.006 Can that which is unsavoury be eaten without salt? or is there any taste in the white of an egg? %%% Ekitaliimu nsa kiriika awatali munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma? 18JOB006.007 The things that my soul refused to touch are as my sorrowful meat. %%% Emmeeme yange egaana okubikomako; Biriŋŋanga ebyokulya eby'omuzizo gye ndi. 18JOB006.008 Oh that I might have my request; and that God would grant me the thing that I long for! %%% Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba ! 18JOB006.009 Even that it would please God to destroy me; that he would let loose his hand, and cut me off! %%% Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo! 18JOB006.010 Then should I yet have comfort; yea, I would harden myself in sorrow: let him not spare; for I have not concealed the words of the Holy One. %%% Kale bwe nnandibadde n'okusanyusibwa nga mmaze Weewaawo, nandijaguzizza olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu. 18JOB006.011 What is my strength, that I should hope? and what is mine end, that I should prolong my life? %%% Amaanyi gange kye ki, nnindirire? N'enkomerero yange kye ki, ngumiikirize? 18JOB006.012 Is my strength the strength of stones? or is my flesh of brass? %%% Amaanyi gange maanyi ga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo? 18JOB006.013 Is not my help in me? and is wisdom driven quite from me? %%% Si kubanga sirina kinnyamba mu nze? N'okukola okw'amaanyi kugobeddwa ddala gye ndi? 18JOB006.014 To him that is afflicted pity should be shewed from his friend; but he forsaketh the fear of the Almighty. %%% Ayagala okuzirika agwana mukwano gwe okumukola eby'ekisa; Era n'oyo aleka okutya Omuyinza w'ebintu byonna. 18JOB006.015 My brethren have dealt deceitfully as a brook, and as the stream of brooks they pass away; %%% Baganda bange balimbyerimbye ng'akagga, Ng'olusalosalo lw'obugga oluggwaawo: 18JOB006.016 Which are blackish by reason of the ice, and wherein the snow is hid: %%% Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka: 18JOB006.017 What time they wax warm, they vanish: when it is hot, they are consumed out of their place. %%% Buli lwe bubuguma, ne bubula: Ebbugumu bwe libaawo, bumalibwawo okuva mu kifo kyabwo. 18JOB006.018 The paths of their way are turned aside; they go to nothing, and perish. %%% Essafaali ezitambula ku mabbali gaabwo ne zikyama; Bambuka mu ddungu ne bazikirira. 18JOB006.019 The troops of Tema looked, the companies of Sheba waited for them. %%% Essafaali z'e Tema zaatunula, Ebibiina eby'e Seeba byabulindirira. 18JOB006.020 They were confounded because they had hoped; they came thither, and were ashamed. %%% Baakwatibwa ensonyi kubanga baasuubira; Bajja eyo ne baswazibwa. 18JOB006.021 For now ye are nothing; ye see my casting down, and are afraid. %%% Kubanga kaakano temuliiko kye muli; Mulaba ekitiisa ne mutya. 18JOB006.022 Did I say, Bring unto me? or, Give a reward for me of your substance? %%% Nali mbagambye nti Mpa? Oba nti Muweeyo ku bintu byammwe ekirabo ku lwange? 18JOB006.023 Or, Deliver me from the enemy's hand? or, Redeem me from the hand of the mighty? %%% Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi? 18JOB006.024 Teach me, and I will hold my tongue: and cause me to understand wherein I have erred. %%% Munjigirize nange naasirika: Era muntegeeze bwe kiri kye nnasobya. 18JOB006.025 How forcible are right words! but what doth your arguing reprove? %%% Ebigambo eby'obugolokofu nga bya maanyi! Naye okuwakana kwammwe kunenya ki? 18JOB006.026 Do ye imagine to reprove words, and the speeches of one that is desperate, which are as wind? %%% Mulowooza okunenya ebigambo? Kubanga okwogera kw'oyo atalina ssuubi biriŋŋanga empewo. 18JOB006.027 Yea, ye overwhelm the fatherless, and ye dig a pit for your friend. %%% Weewaawo, mwandikubidde obululu atalina kitaawe, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba. 18JOB006.028 Now therefore be content, look upon me; for it is evident unto you if I lie. %%% Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe. 18JOB006.029 Return, I pray you, let it not be iniquity; yea, return again, my righteousness is in it. %%% Muddeeyo, mbeegayiridde, waleme okubaawo ebitali bya nsonga; Weewaawo, muddeeyo nate, ensonga yange nnungi. 18JOB006.030 Is there iniquity in my tongue? cannot my taste discern perverse things? %%% Ku lulimi lwange kuliko ebitali bya nsonga? Amatama gange tegayinza kwawula bigambo ebireeta akabi? 18JOB007.001 Is there not an appointed time to man upon earth? are not his days also like the days of an hireling? %%% Abantu tebalina lutalo ku nsi? N'ennaku zaabwe tezifaanana nnaku z'oyo akolera empeera? 18JOB007.002 As a servant earnestly desireth the shadow, and as an hireling looketh for the reward of his work: %%% Ng'omuddu ayaayaanira ennyo ekisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye: 18JOB007.003 So am I made to possess months of vanity, and wearisome nights are appointed to me. %%% Bwe ntyo nange bwe mmazibwa emyezi egitaliiko kye gigasa, N'ebiseera eby'ekiro ebinkooya byanteekerwawo. 18JOB007.004 When I lie down, I say, When shall I arise, and the night be gone? and I am full of tossings to and fro unto the dawning of the day. %%% Bwe ngalamira ne njogera nti Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo; Era nsula nneekubiira okukeesa obudde. 18JOB007.005 My flesh is clothed with worms and clods of dust; my skin is broken, and become loathsome. %%% Omubiri gwange gwambadde envunyu n'amafunfugu; Eddiba lyange liziba ne litulika nate. 18JOB007.006 My days are swifter than a weaver's shuttle, and are spent without hope. %%% Ennaku zange ziwulukuka mangu okusinga obutanta bw'omulusi w'engoye, Era ziggwaawo awatali ssuubi. 18JOB007.007 O remember that my life is wind: mine eye shall no more see good. %%% Woowe, jjukira ng'obulamu bwange mpewo: Amaaso gange tegakyalaba nate birungi. 18JOB007.008 The eye of him that hath seen me shall see me no more: thine eyes are upon me, and I am not. %%% Eriiso ly'oyo andaba terikyandaba nate: Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo. 18JOB007.009 As the cloud is consumed and vanisheth away: so he that goeth down to the grave shall come up no more. %%% Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka mu magombe taalinnyenga kuvaayo. 18JOB007.010 He shall return no more to his house, neither shall his place know him any more. %%% Taddenga nate mu nnyumba ye, So n'ekifo kye tekiimumanyenga nate. 18JOB007.011 Therefore I will not refrain my mouth; I will speak in the anguish of my spirit; I will complain in the bitterness of my soul. %%% Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange; Naayogeza obubalagaze bw'omwoyo gwange; Neemulugunyisa obuyinike bw'emmeeme yange. 18JOB007.012 Am I a sea, or a whale, that thou settest a watch over me? %%% Nze nnyanja, oba lukwata, N'okussaako n'onzisaako abankuuma? 18JOB007.013 When I say, My bed shall comfort me, my couch shall ease my complaint; %%% Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, Ekiriri kyange kinaawummuza okwemulugunya kwange; 18JOB007.014 Then thou scarest me with dreams, and terrifiest me through visions: %%% Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa: 18JOB007.015 So that my soul chooseth strangling, and death rather than my life. %%% Emmeeme yange n'okweroboza ne yeeroboza okutugibwa, N'okufa okusinga amagumba gange gano. 18JOB007.016 I loathe it; I would not live alway: let me alone; for my days are vanity. %%% Ntamiddwa obulamu bwange; saagala kuba mulamu ennaku zonna: Ndeka; kubanga ennaku zange teziriimu. 18JOB007.017 What is man, that thou shouldest magnify him? and that thou shouldest set thine heart upon him? %%% Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo. 18JOB007.018 And that thou shouldest visit him every morning, and try him every moment? %%% N'okumujjira buli nkya, N'okumukema buli kaseera? 18JOB007.019 How long wilt thou not depart from me, nor let me alone till I swallow down my spittle? %%% Olituusa wa obutanziyangako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange? 18JOB007.020 I have sinned; what shall I do unto thee, O thou preserver of men? why hast thou set me as a mark against thee, so that I am a burden to myself? %%% Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba sabbaawa gy'oli, N'okuzitowa ne nneezitoowerera nze nzekka? 18JOB007.021 And why dost thou not pardon my transgression, and take away mine iniquity? for now shall I sleep in the dust; and thou shalt seek me in the morning, but I shall not be. %%% Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu; Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo. 18JOB008.001 Then answered Bildad the Shuhite, and said, %%% Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti 18JOB008.002 How long wilt thou speak these things? and how long shall the words of thy mouth be like a strong wind? %%% Olituusa wa okwogera ebyo? Era ebigambo eby'omu kamwa ko birituusa wa okuba ng'empewo ey'amaanyi? 18JOB008.003 Doth God pervert judgment? or doth the Almighty pervert justice? %%% Katonda anyoola omusango? Oba Omuyinza w'ebintu byonna anyoola ensonga? 18JOB008.004 If thy children have sinned against him, and he have cast them away for their transgression; %%% Abaana bo oba nga baamwanoona, Ye n'abagabula mu mukono gw'okusobya kwabwe: 18JOB008.005 If thou wouldest seek unto God betimes, and make thy supplication to the Almighty; %%% Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda, Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna; 18JOB008.006 If thou wert pure and upright; surely now he would awake for thee, and make the habitation of thy righteousness prosperous. %%% Singa obadde mulongoofu era wa mazima; Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo. 18JOB008.007 Though thy beginning was small, yet thy latter end should greatly increase. %%% Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yo ey'oluvannyuma yandyeyongedde nnyo. 18JOB008.008 For enquire, I pray thee, of the former age, and prepare thyself to the search of their fathers: %%% Kubanga buuza ab'emirembe egyasooka, nkwegayiridde, Okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala: 18JOB008.009 (For we are but of yesterday, and know nothing, because our days upon earth are a shadow:) %%% (Kubanga tuli ba jjo, so tetuliiko kye tumanyi, Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi kisiikirize:) 18JOB008.010 Shall not they teach thee, and tell thee, and utter words out of their heart? %%% Bo tebalikuyigiriza ne bakubuulira, Ne boogera ebigambo ebiva mu mutima gwabwe? 18JOB008.011 Can the rush grow up without mire? can the flag grow without water? %%% Ekitoogo kiyinza okukula awatali bitosi? Olulago luyinza okumera awatali mazzi? 18JOB008.012 Whilst it is yet in his greenness, and not cut down, it withereth before any other herb. %%% Nga lukyali lubisi nga terunnatemebwa, Luwotoka okusooka omuddo omulala gwonna. 18JOB008.013 So are the paths of all that forget God; and the hypocrite's hope shall perish: %%% Bwe gatyo bwe gabeera amakubo ga bonna abeerabira Katonda; N'essuubi ly'oyo atatya Katonda binaabulanga: 18JOB008.014 Whose hope shall be cut off, and whose trust shall be a spider's web. %%% Obwesige bwe bunaakutukanga, N'ekyo kye yeesiga ngoye za nnabbubi. 18JOB008.015 He shall lean upon his house, but it shall not stand: he shall hold it fast, but it shall not endure. %%% Aneesigamanga ku nnyumba ye, naye teeyimirirenga: Anaaginywererangako, naye teegumenga. 18JOB008.016 He is green before the sun, and his branch shooteth forth in his garden. %%% Ayerera mu maaso g'enjuba, N'amalagala ge galanda okubuna olusuku lwe. 18JOB008.017 His roots are wrapped about the heap, and seeth the place of stones. %%% Emmizi gye gikwata ku kifunvu, Alaba ekifo eky'amayinja. 18JOB008.018 If he destroy him from his place, then it shall deny him, saying, I have not seen thee. %%% Bw'anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye, Awo kinaamwegaananga nga kyogera nti Sikulabangako. 18JOB008.019 Behold, this is the joy of his way, and out of the earth shall others grow. %%% Laba, eryo lye ssanyu ery'ekkubo lye, N'abalala baliroka okuva mu ttaka. 18JOB008.020 Behold, God will not cast away a perfect man, neither will he help the evil doers: %%% Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi. 18JOB008.021 Till he fill thy mouth with laughing, and thy lips with rejoicing. %%% Bw'alimala alijjuza akamwa ko enseko, N’emimwa gyo okwogerera waggulu. 18JOB008.022 They that hate thee shall be clothed with shame; and the dwelling place of the wicked shall come to nought. %%% Abakukyawa balyambala ensonyi; N’eweema ey’ababi teribaawo nate. 18JOB009.001 Then Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB009.002 I know it is so of a truth: but how should man be just with God? %%% Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? 18JOB009.003 If he will contend with him, he cannot answer him one of a thousand. %%% Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi. 18JOB009.004 He is wise in heart, and mighty in strength: who hath hardened himself against him, and hath prospered? %%% Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa? 18JOB009.005 Which removeth the mountains, and they know not: which overturneth them in his anger. %%% Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe. 18JOB009.006 Which shaketh the earth out of her place, and the pillars thereof tremble. %%% Anyeenya ensi okuva mu kifo kyayo, Empagi zaayo ne zikankana. 18JOB009.007 Which commandeth the sun, and it riseth not; and sealeth up the stars. %%% Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye. 18JOB009.008 Which alone spreadeth out the heavens, and treadeth upon the waves of the sea. %%% Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja. 18JOB009.009 Which maketh Arcturus, Orion, and Pleiades, and the chambers of the south. %%% Akola Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo. 18JOB009.010 Which doeth great things past finding out; yea, and wonders without number. %%% Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika. 18JOB009.011 Lo, he goeth by me, and I see him not: he passeth on also, but I perceive him not. %%% Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera. 18JOB009.012 Behold, he taketh away, who can hinder him? who will say unto him, What doest thou? %%% Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki? 18JOB009.013 If God will not withdraw his anger, the proud helpers do stoop under him. %%% Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we. 18JOB009.014 How much less shall I answer him, and choose out my words to reason with him? %%% Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye? 18JOB009.015 Whom, though I were righteous, yet would I not answer, but I would make supplication to my judge. %%% Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange. 18JOB009.016 If I had called, and he had answered me; yet would I not believe that he had hearkened unto my voice. %%% Singa nkoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange. 18JOB009.017 For he breaketh me with a tempest, and multiplieth my wounds without cause. %%% Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere. 18JOB009.018 He will not suffer me to take my breath, but filleth me with bitterness. %%% Taŋŋanyenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze. 18JOB009.019 If I speak of strength, lo, he is strong: and if of judgment, who shall set me a time to plead? %%% Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani ananteekerawo ekiseera? 18JOB009.020 If I justify myself, mine own mouth shall condemn me: if I say, I am perfect, it shall also prove me perverse. %%% Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuukirira, kanantegeeza okuba omukyamu. 18JOB009.021 Though I were perfect, yet would I not know my soul: I would despise my life. %%% Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange. 18JOB009.022 This is one thing, therefore I said it, He destroyeth the perfect and the wicked. %%% Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi. 18JOB009.023 If the scourge slay suddenly, he will laugh at the trial of the innocent. %%% Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi. 18JOB009.024 The earth is given into the hand of the wicked: he covereth the faces of the judges thereof; if not, where, and who is he? %%% Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi : Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani? 18JOB009.025 Now my days are swifter than a post: they flee away, they see no good. %%% Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba. 18JOB009.026 They are passed away as the swift ships: as the eagle that hasteth to the prey. %%% Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo. 18JOB009.027 If I say, I will forget my complaint, I will leave off my heaviness, and comfort myself: %%% Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo: 18JOB009.028 I am afraid of all my sorrows, I know that thou wilt not hold me innocent. %%% Awo nga ntidde obuyinike bwange bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango. 18JOB009.029 If I be wicked, why then labour I in vain? %%% Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere? 18JOB009.030 If I wash myself with snow water, and make my hands never so clean; %%% Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya; 18JOB009.031 Yet shalt thou plunge me in the ditch, and mine own clothes shall abhor me. %%% Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa. 18JOB009.032 For he is not a man, as I am, that I should answer him, and we should come together in judgment. %%% Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango. 18JOB009.033 Neither is there any daysman betwixt us, that might lay his hand upon us both. %%% Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi. 18JOB009.034 Let him take his rod away from me, and let not his fear terrify me: %%% Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga: 18JOB009.035 Then would I speak, and not fear him; but it is not so with me. %%% Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka. 18JOB010.001 My soul is weary of my life; I will leave my complaint upon myself; I will speak in the bitterness of my soul. %%% Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; Naafukumula okwemulugunya kwange; Naayogeza kkabyo lya mmeeme Yange. 18JOB010.002 I will say unto God, Do not condemn me; shew me wherefore thou contendest with me. %%% Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Ntegeeza kyova owakana nange. 18JOB010.003 Is it good unto thee that thou shouldest oppress, that thou shouldest despise the work of thine hands, and shine upon the counsel of the wicked? %%% Okiyita kirungi ggwe okujooga, Okunyooma omulimu gw'engalo zo, N'oyakira okuteesa kw'ababi? 18JOB010.004 Hast thou eyes of flesh? or seest thou as man seeth? %%% Olina amaaso ag'omubiri, Oba ggwe olaba ng'abantu bwe balaba? 18JOB010.005 Are thy days as the days of man? are thy years as man's days, %%% Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez'abantu, Oba emyaka gyo ng'ennaku ez'abantu, 18JOB010.006 That thou enquirest after mine iniquity, and searchest after my sin? %%% N'okubuuza n'obuuza obutali butuukirivu bwange, N'onoonya okwonoona kwange, 18JOB010.007 Thou knowest that I am not wicked; and there is none that can deliver out of thine hand. %%% Newakubadde ng'omanyi nga ssiri mubi; So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo? 18JOB010.008 Thine hands have made me and fashioned me together round about; yet thou dost destroy me. %%% Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Wamu eruuyi n'eruuyi; naye onzikiriza. 18JOB010.009 Remember, I beseech thee, that thou hast made me as the clay; and wilt thou bring me into dust again? %%% Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng'ettaka; Era olinziza nate mu nfuufu? 18JOB010.010 Hast thou not poured me out as milk, and curdled me like cheese? %%% Tonzituludde ng'amata, N'onkwasa ng'amata amakalu? 18JOB010.011 Thou hast clothed me with skin and flesh, and hast fenced me with bones and sinews. %%% Wannyambaza eddiba n'omubiri, Era wangatta wamu n'amagumba n'ebinywa. 18JOB010.012 Thou hast granted me life and favour, and thy visitation hath preserved my spirit. %%% Wampa obulamu n'okuganja, N'okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange. 18JOB010.013 And these things hast thou hid in thine heart: I know that this is with thee. %%% Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo; Mmanyi ng'ekyo kiri naawe: 18JOB010.014 If I sin, then thou markest me, and thou wilt not acquit me from mine iniquity. %%% Bwe nnyonoona, kale oneetegereza, So tolinziyako butali butuukirivu bwange. 18JOB010.015 If I be wicked, woe unto me; and if I be righteous, yet will I not lift up my head. I am full of confusion; therefore see thou mine affliction; %%% Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange; Nga nswazibwa nnyo Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba. 18JOB010.016 For it increaseth. Thou huntest me as a fierce lion: and again thou shewest thyself marvellous upon me. %%% Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng'empologoma: Era nate weeraga ow'ekitalo gye ndi. 18JOB010.017 Thou renewest thy witnesses against me, and increasest thine indignation upon me; changes and war are against me. %%% Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze, N'onnyongerako okunyiiga kwo; Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange. 18JOB010.018 Wherefore then hast thou brought me forth out of the womb? Oh that I had given up the ghost, and no eye had seen me! %%% Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto? Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye: 18JOB010.019 I should have been as though I had not been; I should have been carried from the womb to the grave. %%% Nandibadde ng'atabangawo; Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana. 18JOB010.020 Are not my days few? cease then, and let me alone, that I may take comfort a little, %%% Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo, Ondeke nsanyusibweko katono, 18JOB010.021 Before I go whence I shall not return, even to the land of darkness and the shadow of death; %%% Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo, Ye nsi ey'ekizikiza n'ey'ekisiikirize eky'okufa; 18JOB010.022 A land of darkness, as darkness itself; and of the shadow of death, without any order, and where the light is as darkness. %%% Ensi ey'ekizikiza ekikutte, ng'ekizikiza kyennyini bwe kiri; Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka, Era omusana gwayo guliŋŋanga ekizikiza. 18JOB011.001 Then answered Zophar the Naamathite, and said, %%% Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti 18JOB011.002 Should not the multitude of words be answered? and should a man full of talk be justified? %%% Olufulube lw'ebigambo terugwana kuluddamu? N'omuntu omwogeziyogezi agwana okumuwa obutuukirivu? 18JOB011.003 Should thy lies make men hold their peace? and when thou mockest, shall no man make thee ashamed? %%% Okwenyumiriza kwo kwandisirisizza abantu? Era bw'oduula, tewaabeewo anaakukwasa ensonyi? 18JOB011.004 For thou hast said, My doctrine is pure, and I am clean in thine eyes. %%% Kubanga oyogera nti Okuyigiriza kwange kulongoofu, Nange ndi mulungi mu maaso go. 18JOB011.005 But oh that God would speak, and open his lips against thee; %%% Naye Katonda singa ayogedde, N'ayasamya emimwa gye eri ggwe: 18JOB011.006 And that he would shew thee the secrets of wisdom, that they are double to that which is! Know therefore that God exacteth of thee less than thine iniquity deserveth. %%% Era singa akwolesezza ebyama eby'amagezi, Nga ga ngeri nnyingi mu kukola okw'amaanyi! Kale tegeera Katonda ng'akutaatira so si ng'obutali butuukirivu bwo bwe bwasaanira. 18JOB011.007 Canst thou by searching find out God? canst thou find out the Almighty unto perfection? %%% Oyinza okulaba Katonda olw'okunoonya? Oyinza okulaba Omuyinza w'ebintu byonna n'omumalayo? 18JOB011.008 It is as high as heaven; what canst thou do? deeper than hell; what canst thou know? %%% Kyenkana eggulu obugulumivu; oyinza kukola ki? Kisinga amagombe okugenda wansi; oyinza kumanya ki? 18JOB011.009 The measure thereof is longer than the earth, and broader than the sea. %%% Ekigero kyakwo kisinga ensi obuwanvu, Era kisinga ennyanja obugazi: 18JOB011.010 If he cut off, and shut up, or gather together, then who can hinder him? %%% Bw'anaayitamu n'asiba abantu, N'abayita okujja okusalirwa omusango, kale ani ayinza okumuziyiza? 18JOB011.011 For he knoweth vain men: he seeth wickedness also; will he not then consider it? %%% Kubanga amanyi abantu abataliiko kye bagasa: Era alaba n'obutali butuukirivu newakubadde nga tabulowooza. 18JOB011.012 For vain man would be wise, though man be born like a wild ass's colt. %%% Naye omuntu ataliiko ky'agasa talina kutegeera, Weewaawo, abantu bazaalibwa ng'omwana w'entulege. 18JOB011.013 If thou prepare thine heart, and stretch out thine hands toward him; %%% Bw'onooteekateekanga obulungi omutima gwo, N'ogololanga emikono gyo eri ye; 18JOB011.014 If iniquity be in thine hand, put it far away, and let not wickedness dwell in thy tabernacles. %%% Obujeemu oba nga buli mu mukono gwo, buteekenga wala, So n'obutali butuukirivu bulemenga okubeera mu weema zo; 18JOB011.015 For then shalt thou lift up thy face without spot; yea, thou shalt be stedfast, and shalt not fear: %%% Kale toolemenga kuyimusa maaso go awatali bbala; Weewaawo, onootereeranga so tootyenga: 18JOB011.016 Because thou shalt forget thy misery, and remember it as waters that pass away: %%% Kubanga oneerabiranga ennaku ze walaba; Onoozijjukiranga ng’amazzi agayiseewo: 18JOB011.017 And thine age shall be clearer than the noonday: thou shalt shine forth, thou shalt be as the morning. %%% N'obulamu bwo bunaatangalanga okusinga ettuntu; Newakubadde nga waliwo ekizikiza, bunaabanga ng’obw'enkya. 18JOB011.018 And thou shalt be secure, because there is hope; yea, thou shalt dig about thee, and thou shalt take thy rest in safety. %%% Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri; Weewaawo, onoomagamaganga n'owummula mirembe. 18JOB011.019 Also thou shalt lie down, and none shall make thee afraid; yea, many shall make suit unto thee. %%% Era onoogalamiranga so tewaabenga anaakutiisanga; Weewaawo, bangi abanaakwegayiriranga. 18JOB011.020 But the eyes of the wicked shall fail, and they shall not escape, and their hope shall be as the giving up of the ghost. %%% Naye amaaso g'ababi ganaggwangawo, N’obuddukiro bunaababulanga, N'essuubi lyabwe linaabanga kuta mukka. 18JOB012.001 And Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB012.002 No doubt but ye are the people, and wisdom shall die with you. %%% Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini, Era amagezi galifiira wamu nammwe. 18JOB012.003 But I have understanding as well as you; I am not inferior to you: yea, who knoweth not such things as these? %%% Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka; Mmwe temunsinga: Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng'ebyo? 18JOB012.004 I am as one mocked of his neighbour, who calleth upon God, and he answereth him: the just upright man is laughed to scorn. %%% Ninga omuntu asekererwa eri munne, Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu: Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa. 18JOB012.005 He that is ready to slip with his feet is as a lamp despised in the thought of him that is at ease. %%% Mu kulowooza kw'oyo eyessa mulimu okunyooma akabi; Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n'ekigere kyabwe. 18JOB012.006 The tabernacles of robbers prosper, and they that provoke God are secure; into whose hand God bringeth abundantly. %%% Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa, N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe; Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe. 18JOB012.007 But ask now the beasts, and they shall teach thee; and the fowls of the air, and they shall tell thee: %%% Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza; N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira: 18JOB012.008 Or speak to the earth, and it shall teach thee: and the fishes of the sea shall declare unto thee. %%% Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza; N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola. 18JOB012.009 Who knoweth not in all these that the hand of the LORD hath wrought this? %%% Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo? 18JOB012.010 In whose hand is the soul of every living thing, and the breath of all mankind. %%% Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo, N'omukka gw'abantu bonna. 18JOB012.011 Doth not the ear try words? and the mouth taste his meat? %%% Okutu tekukema bigambo, Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago? 18JOB012.012 With the ancient is wisdom; and in length of days understanding. %%% Amagezi gaba n'abasajja abakadde, N'okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi. 18JOB012.013 With him is wisdom and strength, he hath counsel and understanding. %%% Eri ye eriyo amagezi n'amaanyi; yalina okuteesa ebigambo n'okutegeera. 18JOB012.014 Behold, he breaketh down, and it cannot be built again: he shutteth up a man, and there can be no opening. %%% Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate; Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo. 18JOB012.015 Behold, he withholdeth the waters, and they dry up: also he sendeth them out, and they overturn the earth. %%% Laba, aziyiza amazzi ne gakala; Nate agasindika ne gavuunika ensi. 18JOB012.016 With him is strength and wisdom: the deceived and the deceiver are his. %%% Eri ye eriyo amaanyi n'okukolera ddala; Alimbibwa n'alimba babe. 18JOB012.017 He leadeth counsellors away spoiled, and maketh the judges fools. %%% Atwala abateesa b'ebigambo nga banyagiddwa, N'abalamuzi abafuula abasirusiru. 18JOB012.018 He looseth the bond of kings, and girdeth their loins with a girdle. %%% Asumulula olujegere lwa bakabaka, Era asiba ekiwato kyabwe n'olukoba. 18JOB012.019 He leadeth princes away spoiled, and overthroweth the mighty. %%% Atwala bakabona nga banyagiddwa, Era amegga ab'amaanyi. 18JOB012.020 He removeth away the speech of the trusty, and taketh away the understanding of the aged. %%% Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe, N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe. 18JOB012.021 He poureth contempt upon princes, and weakeneth the strength of the mighty. %%% Afuka okunyoomebwa ku balangira, Era asumulula olukoba olw'ab'amaanyi. 18JOB012.022 He discovereth deep things out of darkness, and bringeth out to light the shadow of death. %%% Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza, Era ayerula ekisiikirize eky'okufa. 18JOB012.023 He increaseth the nations, and destroyeth them: he enlargeth the nations, and straiteneth them again. %%% Ayaza amawanga, era agazikiriza: Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo. 18JOB012.024 He taketh away the heart of the chief of the people of the earth, and causeth them to wander in a wilderness where there is no way. %%% Abakulu b'abantu ab'omu nsi abaggyako omwoyo, Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo. 18JOB012.025 They grope in the dark without light, and he maketh them to stagger like a drunken man. %%% Bawammantira mu kizikiza awatali musana, Era abatagassa ng'omutamiivu. 18JOB013.001 Lo, mine eye hath seen all this, mine ear hath heard and understood it. %%% Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera. 18JOB013.002 What ye know, the same do I know also: I am not inferior unto you. %%% Bye mumanyi era nange mbimanyi: Mmwe temunsinga. 18JOB013.003 Surely I would speak to the Almighty, and I desire to reason with God. %%% Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Era njagala okuteesa ne Katonda. 18JOB013.004 But ye are forgers of lies, ye are all physicians of no value. %%% Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa. 18JOB013.005 O that ye would altogether hold your peace! and it should be your wisdom. %%% Singa musirikidde ddala! Lwe mwandibadde n'amagezi. 18JOB013.006 Hear now my reasoning, and hearken to the pleadings of my lips. %%% Muwulire nno ensonga yange, Mutege okutu eri okuwoza kw'emimwa gyange. 18JOB013.007 Will ye speak wickedly for God? and talk deceitfully for him? %%% Munawolereza Katonda nga mwogera ebitali bya songa, Era nga muleeta eby’obulimba? 18JOB013.008 Will ye accept his person? will ye contend for God? %%% Munaamutya kitiibwa? Munaayomberera Katonda? 18JOB013.009 Is it good that he should search you out? or as one man mocketh another, do ye so mock him? %%% Kirungi ye okubakebera? Oba ng'omuntu bw'alimba munne munaamulimba ye? 18JOB013.010 He will surely reprove you, if ye do secretly accept persons. %%% Talirema kubanenya, Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama. 18JOB013.011 Shall not his excellency make you afraid? and his dread fall upon you? %%% Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa N'entiisa ye teribagwako? 18JOB013.012 Your remembrances are like unto ashes, your bodies to bodies of clay. %%% Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, Enkomera zammwe nkomera za ttaka. 18JOB013.013 Hold your peace, let me alone, that I may speak, and let come on me what will. %%% Musirike mundeke njogere, Ebinaayagala okujja binjijire. 18JOB013.014 Wherefore do I take my flesh in my teeth, and put my life in mine hand? %%% Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange, Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange? 18JOB013.015 Though he slay me, yet will I trust in him: but I will maintain mine own ways before him. %%% Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge. 18JOB013.016 He also shall be my salvation: for an hypocrite shall not come before him. %%% Era ekyo kye kinaabanga obulokozi bwange; Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge. 18JOB013.017 Hear diligently my speech, and my declaration with your ears. %%% Muwulire nnyo ebigambo byange, N'ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe. 18JOB013.018 Behold now, I have ordered my cause; I know that I shall be justified. %%% Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange; Mmanyi nga ndi mutuukirivu. 18JOB013.019 Who is he that will plead with me? for now, if I hold my tongue, I shall give up the ghost. %%% Ani anaawakana nange? Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka. 18JOB013.020 Only do not two things unto me: then will I not hide myself from thee. %%% Kyokka tonkola bigambo bibiri, Kale ne sseekweka amaaso go: 18JOB013.021 Withdraw thine hand far from me: and let not thy dread make me afraid. %%% Nziyaako omukono gwo gumbeere wala; So n'entiisa yo ereme okunkanga. 18JOB013.022 Then call thou, and I will answer: or let me speak, and answer thou me. %%% Kale koowoola ggwe nange naayitaba; Oba leka njogere naawe onziremu. 18JOB013.023 How many are mine iniquities and sins? make me to know my transgression and my sin. %%% Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange byenkana wa obungi? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange. 18JOB013.024 Wherefore hidest thou thy face, and holdest me for thine enemy? %%% Okisiza ki amaaso go, N'ompita omulabe wo? 18JOB013.025 Wilt thou break a leaf driven to and fro? and wilt thou pursue the dry stubble? %%% Onoococca essubi eritwalibwa empewo? Era onooyigganya ebisasiro ebikaze? 18JOB013.026 For thou writest bitter things against me, and makest me to possess the iniquities of my youth. %%% Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo, Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange: 18JOB013.027 Thou puttest my feet also in the stocks, and lookest narrowly unto all my paths; thou settest a print upon the heels of my feet. %%% N'ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna; Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange: 18JOB013.028 And he, as a rotten thing, consumeth, as a garment that is moth eaten. %%% Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo, Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje. 18JOB014.001 Man that is born of a woman is of few days, and full of trouble. %%% Omuntu azaalibwa omukazi wa nnakku si nnyigi, era ajjude obuyinike. 18JOB014.002 He cometh forth like a flower, and is cut down: he fleeth also as a shadow, and continueth not. %%% Amulisa ng'ekimuli n'atemebwa: Era adduka ng'ekisiikirize so tabeerera. 18JOB014.003 And dost thou open thine eyes upon such an one, and bringest me into judgment with thee? %%% Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw'atyo, N'ondeeta mu musango nze naawe? 18JOB014.004 Who can bring a clean thing out of an unclean? not one. %%% Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali korongoofu? tewali n'omu. 18JOB014.005 Seeing his days are determined, the number of his months are with thee, thou hast appointed his bounds that he cannot pass; %%% Kubanga ennaku ze zaateesebwa, omuwendo gw'emyezi gye guli naawe, Era wamuteekerawo ensalo ze z'atayinza kusukkako; 18JOB014.006 Turn from him, that he may rest, till he shall accomplish, as an hireling, his day. %%% Muggyeeko amaaso go awummule, Okutuusa lw'alimala olunaku lwe ng'akolera empeera. 18JOB014.007 For there is hope of a tree, if it be cut down, that it will sprout again, and that the tender branch thereof will not cease. %%% Kubanga waliwo essuubi ery'omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate, Era ng'ettabi lyagwo etto teririfa. 18JOB014.008 Though the root thereof wax old in the earth, and the stock thereof die in the ground; %%% Ekikolo kyagwo newakubadde nga kikaddiwa mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kifiira mu nsi; 18JOB014.009 Yet through the scent of water it will bud, and bring forth boughs like a plant. %%% Naye olw'akaloosa k'amazzi gulimulisa, Ne gusuula amatabi ng'ekisimbe. 18JOB014.010 But man dieth, and wasteth away: yea, man giveth up the ghost, and where is he? %%% Naye omuntu afa era ayongobera: Weewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa? 18JOB014.011 As the waters fail from the sea, and the flood decayeth and drieth up: %%% Ng'amazzi bwe gaggweerera mu nnyanja, N'omugga nga bwe guggwaawo ne gukalira; 18JOB014.012 So man lieth down, and riseth not: till the heavens be no more, they shall not awake, nor be raised out of their sleep. %%% Bw'atyo n'omuntu agalamira n'atayimuka: Okutuusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka, So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe. 18JOB014.013 O that thou wouldest hide me in the grave, that thou wouldest keep me secret, until thy wrath be past, that thou wouldest appoint me a set time, and remember me! %%% Singa onkwese mu magombe, Singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n'onjijukira! 18JOB014.014 If a man die, shall he live again? all the days of my appointed time will I wait, till my change come. %%% Omuntu bw'afa aliba mulamu nate? Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez'olutabaalo lwange, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze. 18JOB014.015 Thou shalt call, and I will answer thee: thou wilt have a desire to the work of thine hands. %%% Wandimpise, nange nandikuyitabye: Wandibadde n'okwegomba eri omulimu gw'emikono gyo. 18JOB014.016 For now thou numberest my steps: dost thou not watch over my sin? %%% Naye kaakano obala ebigere byange: Tolabirira kwonoona kwange? 18JOB014.017 My transgression is sealed up in a bag, and thou sewest up mine iniquity. %%% Okusobya kwange kuteekeddwako akabonero mu nsawo, Era osibira ddala obutali butuukirivu bwange. 18JOB014.018 And surely the mountain falling cometh to nought, and the rock is removed out of his place. %%% Era mazima olusozi olugwa luggwaawo, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo; 18JOB014.019 The waters wear the stones: thou washest away the things which grow out of the dust of the earth; and thou destroyest the hope of man. %%% Amazzi gasiriiza amayinja; Okwaajaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey'oku nsi: Era ozikiriza essuubi ery'omuntu. 18JOB014.020 Thou prevailest for ever against him, and he passeth: thou changest his countenance, and sendest him away. %%% Ennaku zonna ng'omuwangula, n'ayitawo; Owaanyisa amaaso ge n'omusindika. 18JOB014.021 His sons come to honour, and he knoweth it not; and they are brought low, but he perceiveth it not of them. %%% Batabani be batuuka mu kitiibwa, ye nga takimanyi; Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategeera bwe bali. 18JOB014.022 But his flesh upon him shall have pain, and his soul within him shall mourn. %%% Naye omubiri gwe oguli ku ye gulumwa, N'emmeeme ye eri munda ye enakuwala. 18JOB015.001 Then answered Eliphaz the Temanite, and said, %%% Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti 18JOB015.002 Should a wise man utter vain knowledge, and fill his belly with the east wind? %%% Ow'amagezi yandizzeemu n'okumanya okutaliimu, N'ajjuza olubuto lwe n'embuyaga ez'ebuvanjuba? 18JOB015.003 Should he reason with unprofitable talk? or with speeches wherewith he can do no good? %%% Yandiwakanye n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa, Oba ng'ayogera ebitaliiko kye biyinza? 18JOB015.004 Yea, thou castest off fear, and restrainest prayer before God. %%% Weewaawo, omalawo okutya, Era oziyiza okwagala Katonda mu maaso ge. 18JOB015.005 For thy mouth uttereth thine iniquity, and thou choosest the tongue of the crafty. %%% Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, Era weeroboza olulimi lw'abagerengetanya. 18JOB015.006 Thine own mouth condemneth thee, and not I: yea, thine own lips testify against thee. %%% Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga so si nze; Weewaawo, emimwa gyo ggwe ye mujulirwa eri ggwe. 18JOB015.007 Art thou the first man that was born? or wast thou made before the hills? %%% Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe baakuzaala ensozi nga tezinnabaawo? 18JOB015.008 Hast thou heard the secret of God? and dost thou restrain wisdom to thyself? %%% Wali owulidde okuteesa kwa Katonda okw'omu kyama? Era weeyita wa magezi wekka omu? 18JOB015.009 What knowest thou, that we know not? what understandest thou, which is not in us? %%% Kiki ky'omanyi ffe kye tutamanyi? Kiki ky'otegeera ekitali mu ffe? 18JOB015.010 With us are both the grayheaded and very aged men, much elder than thy father. %%% Abameze envi n'abakadde ennyo bali wamu naffe, Abasinga ennyo kitaawo obukadde. 18JOB015.011 Are the consolations of God small with thee? is there any secret thing with thee? %%% Okusanyusa kwa Katonda kutono, tekukumala, N'ekigambo ekyogera naawe empola? 18JOB015.012 Why doth thine heart carry thee away? and what do thy eyes wink at, %%% Omutima gwo gukutwalira ki? N'amaaso go gatemeza ki? 18JOB015.013 That thou turnest thy spirit against God, and lettest such words go out of thy mouth? %%% N'okukyusa omwoyo gwo okulwana ne Katonda, N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko. 18JOB015.014 What is man, that he should be clean? and he which is born of a woman, that he should be righteous? %%% Omuntu kye kiki abeere omulongoofu? N'oyo azaalibwa omukazi abeere omutuukirivu? 18JOB015.015 Behold, he putteth no trust in his saints; yea, the heavens are not clean in his sight. %%% Laba, teyeesiga batukuvu be; Weewaawo, eggulu si ddongoofu mu maaso ge. 18JOB015.016 How much more abominable and filthy is man, which drinketh iniquity like water? %%% Omugwagwa era omuvundu si ye asinga nnyo obutaba mulongoofu, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi! 18JOB015.017 I will shew thee, hear me; and that which I have seen I will declare; %%% Naakwolesa, mpulira; N'ekyo kye ndabye kye nnaabuulira: 18JOB015.018 Which wise men have told from their fathers, and have not hid it: %%% (Ab'amagezi kye baabuuliranga Okuva ku bajjajjaabwe, ne batakikweka; 18JOB015.019 Unto whom alone the earth was given, and no stranger passed among them. %%% Abaaweebwa ensi bokka, So tewali munnaggwanga eyayita mu bo:) 18JOB015.020 The wicked man travaileth with pain all his days, and the number of years is hidden to the oppressor. %%% Omubi aba lubuto lwa buyinike ennaku ze zonna, Gwe muwendo gw'emyaka egyamuterekerwa omujoozi. 18JOB015.021 A dreadful sound is in his ears: in prosperity the destroyer shall come upon him. %%% Eddoboozi ery'entiisa liba mu matu ge; Bw'aba ng'alabye omukisa omunyazi alimugwako: 18JOB015.022 He believeth not that he shall return out of darkness, and he is waited for of the sword. %%% Takkiriza ng'alidda okuva mu kizikiza, Era ekitala kimulindirira: 18JOB015.023 He wandereth abroad for bread, saying, Where is it? he knoweth that the day of darkness is ready at his hand. %%% Atambuliratambulira ekyokulya ng'ayogera nti Kiri ludda wa? Amanyi ng'olunaku olw'ekizikiza lweteeseteese, luli ku mukono gwe. 18JOB015.024 Trouble and anguish shall make him afraid; they shall prevail against him, as a king ready to the battle. %%% Okweraliikirira n'obubalagaze bimutiisa; Bimuwangula nga kabaka eyeeteeseteese okulwana: 18JOB015.025 For he stretcheth out his hand against God, and strengtheneth himself against the Almighty. %%% Kubanga agolodde omukono gwe eri Katonda, N'agirira Omuyinza w'ebintu byonna eby'ekyejo; 18JOB015.026 He runneth upon him, even on his neck, upon the thick bosses of his bucklers: %%% Amufubutukirako ng'akakanyazizza ensingo ye, N'amakundi amanene ag'oku ngabo ze: 18JOB015.027 Because he covereth his face with his fatness, and maketh collops of fat on his flanks. %%% Kubanga abisse ku maaso ge obugevvu bwe, Era aleese ebifi by'amasavu ku mbiriizi ze; 18JOB015.028 And he dwelleth in desolate cities, and in houses which no man inhabiteth, which are ready to become heaps. %%% Era yabeeranga mu bibuga eby'amatongo, Mu nnyumba omutali muntu, Ezaali zaagala okufuuka ebifunvu. 18JOB015.029 He shall not be rich, neither shall his substance continue, neither shall he prolong the perfection thereof upon the earth. %%% Taagaggawalenga so n'ebintu bye tebiibenga bya lubeerera, So n'ebibala byabwe tebiikutamenga okutuuka ku ttaka. 18JOB015.030 He shall not depart out of darkness; the flame shall dry up his branches, and by the breath of his mouth shall he go away. %%% Taavenga mu kizikiza; Omuliro gunaakazanga amatabi ge, Era anaavangawo olw'omukka ogw'omu kamwa ke. 18JOB015.031 Let not him that is deceived trust in vanity: for vanity shall be his recompence. %%% Aleme okwesiga ebitaliimu nga yeerimbalimba: Kubanga ebitaliimu bye binaabanga empeera ye. 18JOB015.032 It shall be accomplished before his time, and his branch shall not be green. %%% Eneekomekkerezebwanga ebiro bye nga tebinnatuukirira, N'ettabi lye teriggumizenga. 18JOB015.033 He shall shake off his unripe grape as the vine, and shall cast off his flower as the olive. %%% Anaakunkumulanga ezabbibu ze ezitannaba kwengera ng'omuzabbibu, Era anaasinsimulanga ekimuli kye ng'omuzeyituuni. 18JOB015.034 For the congregation of hypocrites shall be desolate, and fire shall consume the tabernacles of bribery. %%% Kubanga ekibiina ky'abatatya Katonda kinaabanga kigumba, Era omuliro gunaayokyanga eweema ezinaalwangamu enguzi. 18JOB015.035 They conceive mischief, and bring forth vanity, and their belly prepareth deceit. %%% Baba mbuto za bubi, ne bazaala obutali butuukirivu, N'olubuto lwabwe luteekateeka bukuusa. 18JOB016.001 Then Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti Mpulirizza bingi ebiri bwe bityo: 18JOB016.002 I have heard many such things: miserable comforters are ye all. %%% Mwenna muli basanyusa abatagasa. 18JOB016.003 Shall vain words have an end? or what emboldeneth thee that thou answerest? %%% Ebigambo ebitaliimu binaakoma? Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula? 18JOB016.004 I also could speak as ye do: if your soul were in my soul's stead, I could heap up words against you, and shake mine head at you. %%% Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera; Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange, Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya, N'okubanyeenyereza omutwe gwange. 18JOB016.005 But I would strengthen you with my mouth, and the moving of my lips should asswage your grief. %%% Naye nandibawadde amaanyi n'akamwa kange, N'okusanyusa kw'emimwa gyange kwandikkakkanyizza obuyinike bwammwe. 18JOB016.006 Though I speak, my grief is not asswaged: and though I forbear, what am I eased? %%% Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era newakubadde nga nzibiikiriza, mpummuzibwa ntya? 18JOB016.007 But now he hath made me weary: thou hast made desolate all my company. %%% Naye kaakano ankooyezza: N'ekibiina kyange kyonna okizisizza. 18JOB016.008 And thou hast filled me with wrinkles, which is a witness against me: and my leanness rising up in me beareth witness to my face. %%% Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi: N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange. 18JOB016.009 He teareth me in his wrath, who hateth me: he gnasheth upon me with his teeth; mine enemy sharpeneth his eyes upon me. %%% Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza; Era annumidde obujugu: Omulabe wange ankanulira amaaso. 18JOB016.010 They have gaped upon me with their mouth; they have smitten me upon the cheek reproachfully; they have gathered themselves together against me. %%% Banjasamidde akamwa kaabwe; Bankubye empi nga banswaza: Bankuŋŋaanirako. 18JOB016.011 God hath delivered me to the ungodly, and turned me over into the hands of the wicked. %%% Katonda angabula eri atatya Katonda, Era ansuula mu mikono gy'ababi. 18JOB016.012 I was at ease, but he hath broken me asunder: he hath also taken me by my neck, and shaken me to pieces, and set me up for his mark. %%% Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati; Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okummenyamenya: Era ansimbye okuba sabbaawa ye. 18JOB016.013 His archers compass me round about, he cleaveth my reins asunder, and doth not spare; he poureth out my gall upon the ground. %%% Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange so tasonyiwa; Afuka omususa gwange ku ttaka. 18JOB016.014 He breaketh me with breach upon breach, he runneth upon me like a giant. %%% Agenda yeeyongera okummenyamenya; Anfubutukirako ng'omuzira. 18JOB016.015 I have sewed sackcloth upon my skin, and defiled my horn in the dust. %%% Ntunze ebibukutu ku ddiba lyange, Era ntadde ejjembe lyange mu nfuufu. 18JOB016.016 My face is foul with weeping, and on my eyelids is the shadow of death; %%% Amaaso gange goonoonese olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa; 18JOB016.017 Not for any injustice in mine hands: also my prayer is pure. %%% Newakubadde nga temuli kyejo mu ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu. 18JOB016.018 O earth, cover not thou my blood, and let my cry have no place. %%% Ai ensi, tobikka ku musaayi gwange, N'okukaaba kwange kuleme okubaako we kuliwummulira. 18JOB016.019 Also now, behold, my witness is in heaven, and my record is on high. %%% Ne kaakano, laba, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu. 18JOB016.020 My friends scorn me: but mine eye poureth out tears unto God. %%% Mikwano gyange bannyooma: Naye eriiso lyange lifuuka amaziga eri Katonda; 18JOB016.021 O that one might plead for a man with God, as a man pleadeth for his neighbour! %%% Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda, N'ey'omwana w'omuntu eri munne. 18JOB016.022 When a few years are come, then I shall go the way whence I shall not return. %%% Kubanga emyaka si mingi bwe giriggwaako, Nditambula olugendo gye ssiriva okukomawo. 18JOB017.001 My breath is corrupt, my days are extinct, the graves are ready for me. %%% Omwoyo gwange gumalibwawo, ennaku zange ziwedde, Entaana enneeteekeddeteekedde. 18JOB017.002 Are there not mockers with me? and doth not mine eye continue in their provocation? %%% Mazima waliwo abakudaazi gye ndi, N'eriiso lyange libeera mu kusosonkereza kwabwe. 18JOB017.003 Lay down now, put me in a surety with thee; who is he that will strike hands with me? %%% Leeta nno akakalu, onneeyimirire gy'oli wekka; Waliwo ani anaakwatagana nange mu mukono? 18JOB017.004 For thou hast hid their heart from understanding: therefore shalt thou not exalt them. %%% Kubanga okisizza omutima gwabwe obutategeera: Kyonoovanga olema okubagulumiza. 18JOB017.005 He that speaketh flattery to his friends, even the eyes of his children shall fail. %%% Oyo aloopa mikwano gye okuba omuyiggo, Era n'amaaso g'abaana be galiggwaawo. 18JOB017.006 He hath made me also a byword of the people; and aforetime I was as a tabret. %%% Era anfudde ekigambo eky'obuwemu mu bantu; Era nfuuse ekyenyinyalwa mu lwatu. 18JOB017.007 Mine eye also is dim by reason of sorrow, and all my members are as a shadow. %%% Era n'eriiso lyange lizibye olw'okunakuwala, N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize. 18JOB017.008 Upright men shall be astonied at this, and the innocent shall stir up himself against the hypocrite. %%% Abantu ab'amazima banaakungubazanga ekyo, N'ataliiko musango aneegolokosanga ku oyo atatya Katonda. 18JOB017.009 The righteous also shall hold on his way, and he that hath clean hands shall be stronger and stronger. %%% Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye, N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, 18JOB017.010 But as for you all, do ye return, and come now: for I cannot find one wise man among you. %%% Naye mukomeewo mwenna, mujje nno: So ssiirabe muntu wa magezi ku mmwe. 18JOB017.011 My days are past, my purposes are broken off, even the thoughts of my heart. %%% Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kukutuddwa, Era n'okulowooza okw'omu mutima gwange. 18JOB017.012 They change the night into day: the light is short because of darkness. %%% Bafuusa ekiro okuba omusana: Omusana guliraana ekizikiza, bwe boogera bwe batyo. 18JOB017.013 If I wait, the grave is mine house: I have made my bed in the darkness. %%% Bwe nsuubira amagombe okuba ennyumba yange: Oba nga neeyaliiridde ekitanda kyange mu kizikiza; 18JOB017.014 I have said to corruption, Thou art my father: to the worm, Thou art my mother, and my sister. %%% Oba nga ŋŋambye okuvunda nti Ggwe kitange; N'envunyu nti Ggwe mmange era mwannyinaze; 18JOB017.015 And where is now my hope? as for my hope, who shall see it? %%% Kale essuubi lyange liri ludda wa? N'essuubi lyange aliriraba ani? 18JOB017.016 They shall go down to the bars of the pit, when our rest together is in the dust. %%% Lirikka mu bisiba eby'amagombe, Okuwummula nga kumaze okubaawo omulundi gumu mu nfuufu. 18JOB018.001 Then answered Bildad the Shuhite, and said, %%% Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti 18JOB018.002 How long will it be ere ye make an end of words? mark, and afterwards we will speak. %%% Mulituusa wa okuteega ebigambo? Musooke okulowooza, ne tulyoka twogera. 18JOB018.003 Wherefore are we counted as beasts, and reputed vile in your sight? %%% Ekituyisa ensolo kiki, Ne tufuuka abatali balongoofu mu maaso go? 18JOB018.004 He teareth himself in his anger: shall the earth be forsaken for thee? and shall the rock be removed out of his place? %%% Ggwe eyeetaagula olw'obusungu Ensi erirekebwa ku lulwo? Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo? 18JOB018.005 Yea, the light of the wicked shall be put out, and the spark of his fire shall not shine. %%% Weewaawo, omumuli gw'omubi gunaazikizibwanga, So n'olusasi olw'omuliro gwe terwakenga. 18JOB018.006 The light shall be dark in his tabernacle, and his candle shall be put out with him. %%% Omumuli gunaabanga kizikiza mu weema ye, N'ettabaaza ye eri waggulu we eneezaamizibwanga. 18JOB018.007 The steps of his strength shall be straitened, and his own counsel shall cast him down. %%% Ebigere eby'amaanyi ge binaafundikirwanga, N'okuteesa kwe ye kunaamusuulanga. 18JOB018.008 For he is cast into a net by his own feet, and he walketh upon a snare. %%% Kubanga ebigere bye ye bimusudde mu kitimba, Era atambulira ku mutego. 18JOB018.009 The gin shall take him by the heel, and the robber shall prevail against him. %%% Ekyambika kinaamukwatanga ekisinziiro, N'akakunizo kinaamunywezanga. 18JOB018.010 The snare is laid for him in the ground, and a trap for him in the way. %%% Akamasu kamukwekeddwa mu ttaka, N'ekigu kimukwekeddwa mu kkubo. 18JOB018.011 Terrors shall make him afraid on every side, and shall drive him to his feet. %%% Entiisa eneemukanga enjuyi zonna, Era eneemuyigganyanga ku bisinziiro bye. 18JOB018.012 His strength shall be hungerbitten, and destruction shall be ready at his side. %%% Amaanyi ge ganaalumwanga enjala, N'obuyinike bunaamubangako ng'asejjera. 18JOB018.013 It shall devour the strength of his skin: even the firstborn of death shall devour his strength. %%% Bunaalyanga ebitundu by'omubiri gwe, Weewaawo, omubereberye w'okufa anaalyanga ebitundu bye. 18JOB018.014 His confidence shall be rooted out of his tabernacle, and it shall bring him to the king of terrors. %%% Anaasimbulwanga mu weema ye gye yeesiga; Era anaaleetebwanga eri kabaka w'ebitiisa. 18JOB018.015 It shall dwell in his tabernacle, because it is none of his: brimstone shall be scattered upon his habitation. %%% Ekitali kikye n'akatono kinaabanga mu weema ye: Ekibiriiti kinaamansirwanga ku kifo mwe yabeeranga, 18JOB018.016 His roots shall be dried up beneath, and above shall his branch be cut off. %%% Ekikolo kye kinaakaliranga ddala wansi, Ne waggulu ettabi lye linaatemebwangawo. 18JOB018.017 His remembrance shall perish from the earth, and he shall have no name in the street. %%% Ekijjukizo kye kinaabulanga ku nsi, So taabenga na linnya mu luguudo. 18JOB018.018 He shall be driven from light into darkness, and chased out of the world. %%% Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu musana, Era anaayigganyizibwanga okuva mu nsi. 18JOB018.019 He shall neither have son nor nephew among his people, nor any remaining in his dwellings. %%% Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga. 18JOB018.020 They that come after him shall be astonied at his day, as they that went before were affrighted. %%% Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka bwe baatiisibwa. 18JOB018.021 Surely such are the dwellings of the wicked, and this is the place of him that knoweth not God. %%% Mazima ennyumba z'atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo, Era kino kye kifo ky'oyo atamanyi Katonda. 18JOB019.001 Then Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB019.002 How long will ye vex my soul, and break me in pieces with words? %%% Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange, Ne mummeayamenya n'ebigambo? 18JOB019.003 These ten times have ye reproached me: ye are not ashamed that ye make yourselves strange to me. %%% Mwakanvumira emirundi kkumi: Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera. 18JOB019.004 And be it indeed that I have erred, mine error remaineth with myself. %%% N'okukyama newakubadde nga nkyamye, Okukyama kwange kubeera nange mwene. 18JOB019.005 If indeed ye will magnify yourselves against me, and plead against me my reproach: %%% Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze, Ne mundeetako ekivume kyange: 18JOB019.006 Know now that God hath overthrown me, and hath compassed me with his net. %%% Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange, Era anzingizizza n'ekitimba kye. 18JOB019.007 Behold, I cry out of wrong, but I am not heard: I cry aloud, but there is no judgment. %%% Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa: Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa. 18JOB019.008 He hath fenced up my way that I cannot pass, and he hath set darkness in my paths. %%% Azibye ekkubo lyange n'okuyinza ne ssiyinza kuyitamu, Era atadde ekizikiza mu makubo gange. 18JOB019.009 He hath stripped me of my glory, and taken the crown from my head. %%% Anziyeeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange. 18JOB019.010 He hath destroyed me on every side, and I am gone: and mine hope hath he removed like a tree. %%% Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti. 18JOB019.011 He hath also kindled his wrath against me, and he counteth me unto him as one of his enemies. %%% Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampita omu ku balabe be gy'ali. 18JOB019.012 His troops come together, and raise up their way against me, and encamp round about my tabernacle. %%% Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze, Ne basiisira okuzingiza eweema yange. 18JOB019.013 He hath put my brethren far from me, and mine acquaintance are verily estranged from me. %%% Baganda bange abantadde wala, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi: 18JOB019.014 My kinsfolk have failed, and my familiar friends have forgotten me. %%% Ab'ekika kyange baweddewo, Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde. 18JOB019.015 They that dwell in mine house, and my maids, count me for a stranger: I am an alien in their sight. %%% Abo ababeera mu nnyumba yange n'abazaana bange bampita mugenyi: Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe. 18JOB019.016 I called my servant, and he gave me no answer; I intreated him with my mouth. %%% Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Newakubadde nga mmwegayirira n'akamwa kange. 18JOB019.017 My breath is strange to my wife, though I intreated for the children's sake of mine own body. %%% Omukka gwange mukazi wange tagumanyi, N'okwegayirira kwange abaana b'enda ya mmange tebakumanyi: 18JOB019.018 Yea, young children despised me; I arose, and they spake against me. %%% Era n'abaana abato bannyooma; Bwe nnyimuka banjogerako obubi. 18JOB019.019 All my inward friends abhorred me: and they whom I loved are turned against me. %%% Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa: N'abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange. 18JOB019.020 My bone cleaveth to my skin and to my flesh, and I am escaped with the skin of my teeth. %%% Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange, Era mponye n'eddiba ly'okumanayo gange. 18JOB019.021 Have pity upon me, have pity upon me, O ye my friends; for the hand of God hath touched me. %%% Munsaasire, munsaasire, si mmwe mikwano gyange; Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko. 18JOB019.022 Why do ye persecute me as God, and are not satisfied with my flesh? %%% Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda, So n'omubiri gwange tegubamala? 18JOB019.023 Oh that my words were now written! oh that they were printed in a book! %%% Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo! 18JOB019.024 That they were graven with an iron pen and lead in the rock for ever! %%% Singa byoleddwa ku lwazi N'ekkalaamu ey'ekyuma n'ekisasi okumala emirembe gyonna! 18JOB019.025 For I know that my redeemer liveth, and that he shall stand at the latter day upon the earth: %%% Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu, Era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi: 18JOB019.026 And though after my skin worms destroy this body, yet in my flesh shall I see God: %%% Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda: 18JOB019.027 Whom I shall see for myself, and mine eyes shall behold, and not another; though my reins be consumed within me. %%% Gwe ndiraba nze mwene, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeeme yange emaliddwawo munda yange. 18JOB019.028 But ye should say, Why persecute we him, seeing the root of the matter is found in me? %%% Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so! Kubanga ekikolo ky'ekigambo kirabise mu nze; 18JOB019.029 Be ye afraid of the sword: for wrath bringeth the punishments of the sword, that ye may know there is a judgment. %%% Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw'ekitala. Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango. 18JOB020.001 Then answered Zophar the Naamathite, and said, %%% Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti 18JOB020.002 Therefore do my thoughts cause me to answer, and for this I make haste. %%% Ebirowoozo byange kyebiva binziramu, Olw'okwanguyiriza okuli mu nze. 18JOB020.003 I have heard the check of my reproach, and the spirit of my understanding causeth me to answer. %%% Mpulidde okunenya okunswaza, Omwoyo ogw'okutegeera kwange ne gunziramu. 18JOB020.004 Knowest thou not this of old, since man was placed upon earth, %%% Ekyo tokimanyi obw'edda, Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka, 18JOB020.005 That the triumphing of the wicked is short, and the joy of the hypocrite but for a moment? %%% Ng'okuwangula kw'ababi kwa kuggwaawo mangu, Era ng'essanyu ly'abatamanyi Katonda lya kiseera buseera? 18JOB020.006 Though his excellency mount up to the heavens, and his head reach unto the clouds; %%% Obukulu bwe newakubadde nga bulinnya okutuuka mu ggulu, N'omutwe gwe gutuuka mu bire; 18JOB020.007 Yet he shall perish for ever like his own dung: they which have seen him shall say, Where is he? %%% Naye anaabulanga emirembe gyonna ng'empitambi ye ye: Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa? 18JOB020.008 He shall fly away as a dream, and shall not be found: yea, he shall be chased away as a vision of the night. %%% Anaavangawo ng'ekirooto, so taalabikenga: Weewaawo, anaagoberwanga ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro. 18JOB020.009 The eye also which saw him shall see him no more; neither shall his place any more behold him. %%% Eriiso eryamulabanga teriimulabenga nate; So n'ekifo kye tekiimutunuulirenga nate. 18JOB020.010 His children shall seek to please the poor, and his hands shall restore their goods. %%% Abaana be baneegonzanga eri abaavu, N'emikono gye ginaakomyangawo obugagga bwe. 18JOB020.011 His bones are full of the sin of his youth, which shall lie down with him in the dust. %%% Amagumba ge gajjudde obuvubuka bwe, Naye bunaagalamiranga naye mu nfuufu. 18JOB020.012 Though wickedness be sweet in his mouth, though he hide it under his tongue; %%% Obubi newakubadde nga bumuwoomera mu kamwa ke, Newakubadde ng'abukweka wansi w'olulimi lwe; 18JOB020.013 Though he spare it, and forsake it not; but keep it still within his mouth: %%% Newakubadde ng'abusonyiwa n'ataganya kubuta, Naye ng'akyaguguba nabwo mu kamwa ke; 18JOB020.014 Yet his meat in his bowels is turned, it is the gall of asps within him. %%% Naye emmere ye mu byenda bye efuuse, Bwe busagwa bwe mbalasaasa munda ye. 18JOB020.015 He hath swallowed down riches, and he shall vomit them up again: God shall cast them out of his belly. %%% Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe. 18JOB020.016 He shall suck the poison of asps: the viper's tongue shall slay him. %%% Anaanuunanga obusagwa bw'embalasaasa: Olulimi lw'omusota lunaamuttanga. 18JOB020.017 He shall not see the rivers, the floods, the brooks of honey and butter. %%% Taatunuulirenga migga, Emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'omuzigo. 18JOB020.018 That which he laboured for shall he restore, and shall not swallow it down: according to his substance shall the restitution be, and he shall not rejoice therein. %%% Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga; So taasanyukenga ng'ebintu bwe biri by'afunye. 18JOB020.019 Because he hath oppressed and hath forsaken the poor; because he hath violently taken away an house which he builded not; %%% Kubanga yajooga abaavu n'abaleka; Yaggyawo ennyumba olw'amaanyi so taagizimbenga. 18JOB020.020 Surely he shall not feel quietness in his belly, he shall not save of that which he desired. %%% Kubanga teyamanya kutereera munda ye, Taawonyenga kintu ku ebyo by'asanyukira. 18JOB020.021 There shall none of his meat be left; therefore shall no man look for his goods. %%% Tewasigala kintu ky'atalya; Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera. 18JOB020.022 In the fulness of his sufficiency he shall be in straits: every hand of the wicked shall come upon him. %%% Mu lufulube lw'ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku: Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutuukangako. 18JOB020.023 When he is about to fill his belly, God shall cast the fury of his wrath upon him, and shall rain it upon him while he is eating. %%% Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Era anaakitonnyesanga ku ye ng'alya. 18JOB020.024 He shall flee from the iron weapon, and the bow of steel shall strike him through. %%% Anaddukanga ekyokulwanyisa eky'ekyuma, N'omutego ogw'ekikomo gunaamufumitanga. 18JOB020.025 It is drawn, and cometh out of the body; yea, the glittering sword cometh out of his gall: terrors are upon him. %%% Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe: Weewaawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe; Ebitiisa bimuliko. 18JOB020.026 All darkness shall be hid in his secret places: a fire not blown shall consume him; it shall go ill with him that is left in his tabernacle. %%% Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby'obugagga: Omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga; Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye. 18JOB020.027 The heaven shall reveal his iniquity; and the earth shall rise up against him. %%% Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe, N'ensi eneemugolokokerangako. 18JOB020.028 The increase of his house shall depart, and his goods shall flow away in the day of his wrath. %%% Ekyengera eky'omu nnyumba ye kinaavangawo, Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw'obusungu bwe. 18JOB020.029 This is the portion of a wicked man from God, and the heritage appointed unto him by God. %%% Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, N'obusika Katonda bwe yamuteekerawo. 18JOB021.001 But Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB021.002 Hear diligently my speech, and let this be your consolations. %%% Muwulire nnyo okwogera kwange; Era bino bibeere bya kubasanyusa. 18JOB021.003 Suffer me that I may speak; and after that I have spoken, mock on. %%% Munzikirize, nange naayogera; Kale nga mmaze okwogera, mweyongere okuduula. 18JOB021.004 As for me, is my complaint to man? and if it were so, why should not my spirit be troubled? %%% Nze neemulugunya eri abantu? Era ekyandindobedde okwesunaasuna kiki? 18JOB021.005 Mark me, and be astonished, and lay your hand upon your mouth. %%% Munziseeko omwoyo, mwewuunye, Era muteeke omukono gwammwe ku kamwa kammwe. 18JOB021.006 Even when I remember I am afraid, and trembling taketh hold on my flesh. %%% Bwe njijukira obujjukizi neeraliikirira, Okwesisiwala ne kukwata omubiri gwange. 18JOB021.007 Wherefore do the wicked live, become old, yea, are mighty in power? %%% Ababi babeerera ki abalamu, Ne bakaddiwa ne baba ba maanyi mu buyinza? 18JOB021.008 Their seed is established in their sight with them, and their offspring before their eyes. %%% Ezzadde lyabwe linywera gye bali bo nga balaba, N'enda yaabwe mu maaso gaabwe. 18JOB021.009 Their houses are safe from fear, neither is the rod of God upon them. %%% Ennyumba zaabwe ziba mirembe awatali kutya, So n'omuggo gwa Katonda tegubabaako, 18JOB021.010 Their bull gendereth, and faileth not; their cow calveth, and casteth not her calf. %%% Ente yaabwe ennume ezaala n'eteddirira; Ente yaabwe enkazi ezaala n'etesowola mwana gwayo. 18JOB021.011 They send forth their little ones like a flock, and their children dance. %%% Basindika abaana baabwe abato ng'ekisibo, N'abaana baabwe bazina. 18JOB021.012 They take the timbrel and harp, and rejoice at the sound of the organ. %%% Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne basanyukira eddoboozi ly'omulere. 18JOB021.013 They spend their days in wealth, and in a moment go down to the grave. %%% Bamala ennaku zaabwe nga balabye omukisa, Mu kaseera ne bakka mu magombe. 18JOB021.014 Therefore they say unto God, Depart from us; for we desire not the knowledge of thy ways. %%% Era naye ne bagamba Katonda nti Tuveeko; Kubanga tetwegomba kumanya makubo go. 18JOB021.015 What is the Almighty, that we should serve him? and what profit should we have, if we pray unto him? %%% Omuyinza w'ebintu byonna kye ki, ffe tumuweereze? Era bwe tunaamusabanga kinaatugasanga kitya? 18JOB021.016 Lo, their good is not in their hand: the counsel of the wicked is far from me. %%% Laba, omukisa gwabwe teguli mu mukono gwabwe: Okuteesa kw'ababi kundi wala. 18JOB021.017 How oft is the candle of the wicked put out! and how oft cometh their destruction upon them! God distributeth sorrows in his anger. %%% Ettabaaza y'ababi ezikizibwa emirundi emeka? N'obuyinike bwabwe bubatuukako emirundi emeka? Katonda agaba ennaku mu busungu bwe emirundi emeka? 18JOB021.018 They are as stubble before the wind, and as chaff that the storm carrieth away. %%% Baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Era ng'ebisusunku embuyaga bye zitwala emirundi emeka? 18JOB021.019 God layeth up his iniquity for his children: he rewardeth him, and he shall know it. %%% Mwogera nti Katonda aterekera abaana be obutali butuukirivu bwe. Abasasule ye yennyini abumanye. 18JOB021.020 His eyes shall see his destruction, and he shall drink of the wrath of the Almighty. %%% Amaaso ge galabe okuzikirira kwe ye, Era anywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna. 18JOB021.021 For what pleasure hath he in his house after him, when the number of his months is cut off in the midst? %%% Kubanga asanyukira atya ennyumba ye emuddirira, Omuwendo gw'emyezi gye nga gukutuse wakati? 18JOB021.022 Shall any teach God knowledge? seeing he judgeth those that are high. %%% Waliwo anaayigirizanga Katonda okumanya? Kubanga asalira abo omusango abagulumizibwa. 18JOB021.023 One dieth in his full strength, being wholly at ease and quiet. %%% Wabaawo omu afa ng'alina amaanyi ge gonna, Ng'aweereddeweeredde ddala ng'ateredde: 18JOB021.024 His breasts are full of milk, and his bones are moistened with marrow. %%% Amabeere ge gajjudde amata, N'obusomyo obw'amagumba ge nga bubisi. 18JOB021.025 And another dieth in the bitterness of his soul, and never eateth with pleasure. %%% N'omulala afa omwoyo gwe nga gumubalagala, So taleganga ku birungi. 18JOB021.026 They shall lie down alike in the dust, and the worms shall cover them. %%% Bombi bagalamira mu nfuufu, Envunyu n'ebabikkako. 18JOB021.027 Behold, I know your thoughts, and the devices which ye wrongfully imagine against me. %%% Laba, mmanyi ebirowoozo byammwe, N'enkwe ze munsalira obubi. 18JOB021.028 For ye say, Where is the house of the prince? and where are the dwelling places of the wicked? %%% Kubanga mwogera nti Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Era nti Eweema ababi mwe babeera eri ludda wa? 18JOB021.029 Have ye not asked them that go by the way? and do ye not know their tokens, %%% Temwababuuza abatambulira mu kkubo? Era temumanyi bubonero bwabwe? 18JOB021.030 That the wicked is reserved to the day of destruction? they shall be brought forth to the day of wrath. %%% Ng'omuntu omubi aterekerwa olunaku olw'okulabirako ennaku? Nga batwalibwa eri olunaku olw'obusungu? 18JOB021.031 Who shall declare his way to his face? and who shall repay him what he hath done? %%% Ani anaabuuliranga ekkubo lye mu maaso ge? Era ani anaamusasulanga bye yakola? 18JOB021.032 Yet shall he be brought to the grave, and shall remain in the tomb. %%% Naye anaatwalibwanga mu ntaana, Era anaakuumanga amalaalo. 18JOB021.033 The clods of the valley shall be sweet unto him, and every man shall draw after him, as there are innumerable before him. %%% Amafunfugu ag'omu kiwonvu ganaamuwoomeranga, N'abantu bonna banaawalulwanga ennyuma we, Nga bwe baamukulembera abatabalika. 18JOB021.034 How then comfort ye me in vain, seeing in your answers there remaineth falsehood? %%% Kale nno munsanyusiza mutya obwereere, Kubanga mu kuddamu kwammwe musigaddemu obulimba busa? 18JOB022.001 Then Eliphaz the Temanite answered and said, %%% Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti 18JOB022.002 Can a man be profitable unto God, as he that is wise may be profitable unto himself? %%% Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka. 18JOB022.003 Is it any pleasure to the Almighty, that thou art righteous? or is it gain to him, that thou makest thy ways perfect? %%% Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go? 18JOB022.004 Will he reprove thee for fear of thee? will he enter with thee into judgment? %%% Kubanga omutya kyava akunenya, Kyava asala omusango gwo? 18JOB022.005 Is not thy wickedness great? and thine iniquities infinite? %%% Obubi bwo si bungi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma. 18JOB022.006 For thou hast taken a pledge from thy brother for nought, and stripped the naked of their clothing. %%% Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere, N'oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe. 18JOB022.007 Thou hast not given water to the weary to drink, and thou hast withholden bread from the hungry. %%% Tonywesanga mazzi omukoowu, Era wamma omuyala emmere. 18JOB022.008 But as for the mighty man, he had the earth; and the honourable man dwelt in it. %%% Naye ow'amaanyi ye yalya ensi; N'ow'ekitiibwa ye yagibeeramu. 18JOB022.009 Thou hast sent widows away empty, and the arms of the fatherless have been broken. %%% Wasindika bannammwandu nga tebalina kintu, N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka. 18JOB022.010 Therefore snares are round about thee, and sudden fear troubleth thee; %%% Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa gy'otomanyiridde ekweraliikiriza, 18JOB022.011 Or darkness, that thou canst not see; and abundance of waters cover thee. %%% Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba, Amazzi amangi ne gakubikkako. 18JOB022.012 Is not God in the height of heaven? and behold the height of the stars, how high they are! %%% Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa? Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu! 18JOB022.013 And thou sayest, How doth God know? can he judge through the dark cloud? %%% Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'ayima mu kizikiza ekikutte? 18JOB022.014 Thick clouds are a covering to him, that he seeth not; and he walketh in the circuit of heaven. %%% Ebire ebiziyivu bimubikkako n'okulaba talaba; Era atambulira mu kwekulungirira kw'eggulu. 18JOB022.015 Hast thou marked the old way which wicked men have trodden? %%% Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi lye baalinnyirangamu? 18JOB022.016 Which were cut down out of time, whose foundation was overflown with a flood: %%% Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo, Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng'omugga: 18JOB022.017 Which said unto God, Depart from us: and what can the Almighty do for them? %%% Abaagambanga Katonda nti Tuveeko: Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukolera ki? 18JOB022.018 Yet he filled their houses with good things: but the counsel of the wicked is far from me. %%% Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi: Naye okuteesa kw'ababi kundi wala. 18JOB022.019 The righteous see it, and are glad: and the innocent laugh them to scorn. %%% Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo: 18JOB022.020 Whereas our substance is not cut down, but the remnant of them the fire consumeth. %%% Ng'ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubookezza. 18JOB022.021 Acquaint now thyself with him, and be at peace: thereby good shall come unto thee. %%% Yiga nno obeere n'emirembe: Bw'otyo bw'onoobanga n'ebirungi. 18JOB022.022 Receive, I pray thee, the law from his mouth, and lay up his words in thine heart. %%% Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke, Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo. 18JOB022.023 If thou return to the Almighty, thou shalt be built up, thou shalt put away iniquity far from thy tabernacles. %%% Bw'onookomangawo eri Omuyinza w'ebintu byonna, onoozimbibwanga; Bw'onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n'eweema zo. 18JOB022.024 Then shalt thou lay up gold as dust, and the gold of Ophir as the stones of the brooks. %%% N'oteeka ebibyo eby'obugagga mu nfuufu, Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag'omu bugga; 18JOB022.025 Yea, the Almighty shall be thy defence, and thou shalt have plenty of silver. %%% Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli. 18JOB022.026 For then shalt thou have thy delight in the Almighty, and shalt lift up thy face unto God. %%% Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda. 18JOB022.027 Thou shalt make thy prayer unto him, and he shall hear thee, and thou shalt pay thy vows. %%% Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga; Era onoosasulanga obweyamobwo. 18JOB022.028 Thou shalt also decree a thing, and it shall be established unto thee: and the light shall shine upon thy ways. %%% Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy'oli; N'omusana gunaayakiranga amakubo go. 18JOB022.029 When men are cast down, then thou shalt say, There is lifting up; and he shall save the humble person. %%% Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa; Era anaalokolanga eyeetoowaza. 18JOB022.030 He shall deliver the island of the innocent: and it is delivered by the pureness of thine hands. %%% Anaawonyanga n'oyo aba taliiko musango: Weewaawo, anaawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'engalo zo. 18JOB023.001 Then Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB023.002 Even to day is my complaint bitter: my stroke is heavier than my groaning. %%% Ne leero okwemulugunya kwange Okukubibwa kwange kusinga okusinda kwange obuzito. 18JOB023.003 Oh that I knew where I might find him! that I might come even to his seat! %%% Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira, Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye! 18JOB023.004 I would order my cause before him, and fill my mouth with arguments. %%% Nandiriraanyizza ensonga yange mu maaso ge, Ne njijuza akamwa kange ensonga. 18JOB023.005 I would know the words which he would answer me, and understand what he would say unto me. %%% Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu, Ne ntegeera bye yandiŋŋambye. 18JOB023.006 Will he plead against me with his great power? No; but he would put strength in me. %%% Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe? Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo. 18JOB023.007 There the righteous might dispute with him; so should I be delivered for ever from my judge. %%% Eyo ab'amazima bandiyinzizza okuwoza naye; Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange. 18JOB023.008 Behold, I go forward, but he is not there; and backward, but I cannot perceive him: %%% Laba, ntambula mu maaso, naye ye nga taliiyo; Ne ntambula ennyuma, naye ne ssiyinza kumulaba: 18JOB023.009 On the left hand, where he doth work, but I cannot behold him: he hideth himself on the right hand, that I cannot see him: %%% Ku mukono ogwa kkono, bw'akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba: Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n'okulaba ne ssiyinza kumulaba: 18JOB023.010 But he knoweth the way that I take: when he hath tried me, I shall come forth as gold. %%% Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu. 18JOB023.011 My foot hath held his steps, his way have I kept, and not declined. %%% Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye; Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama. 18JOB023.012 Neither have I gone back from the commandment of his lips; I have esteemed the words of his mouth more than my necessary food. %%% Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky'emimwa gye; Natereka ebigambo eby'akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira. 18JOB023.013 But he is in one mind, and who can turn him? and what his soul desireth, even that he doeth. %%% Naye ye alowooza bumu, era ani ayinza okumukyusa? Era emmeeme ye kye yeegomba ekyo ky'akola. 18JOB023.014 For he performeth the thing that is appointed for me: and many such things are with him. %%% Kubanga atuukiriza ekyo ekyanteekerwawo: N'ebingi ebiri bwe bityo biri naye. 18JOB023.015 Therefore am I troubled at his presence: when I consider, I am afraid of him. %%% Kyenva neeraliikirira ye okubaawo; Bwe ndowooza mmutya. 18JOB023.016 For God maketh my heart soft, and the Almighty troubleth me: %%% Kubanga Katonda azirisiza omutima gwange. Era Omuyinza w'ebintu byonna anteganyizza: 18JOB023.017 Because I was not cut off before the darkness, neither hath he covered the darkness from my face. %%% Kubanga saazikirizibwa okusooka ekizikiza, So teyabikka ku kizikiza ekikutte eri amaaso gange. 18JOB024.001 Why, seeing times are not hidden from the Almighty, do they that know him not see his days? %%% Omuyinza w'ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro? N'abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze? 18JOB024.002 Some remove the landmarks; they violently take away flocks, and feed thereof. %%% Wabaawo abajjulula obubonero bw'ensalo; Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa. 18JOB024.003 They drive away the ass of the fatherless, they take the widow's ox for a pledge. %%% Bagoba endogoyi ey'abatalina kitaabwe, Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo. 18JOB024.004 They turn the needy out of the way: the poor of the earth hide themselves together. %%% Bakyamya abeetaaga mu kkubo: Abaavu ab'omu nsi beekweka wamu. 18JOB024.005 Behold, as wild asses in the desert, go they forth to their work; rising betimes for a prey: the wilderness yieldeth food for them and for their children. %%% Laba, ng'entulege mu ddungu Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby'okulya; Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe. 18JOB024.006 They reap every one his corn in the field: and they gather the vintage of the wicked. %%% Basala emmere ey'ensolo zaabwe mu ttale; Era banoga ezabbibu ez'omubi. 18JOB024.007 They cause the naked to lodge without clothing, that they have no covering in the cold. %%% Basula ne bakeesa obudde nga tebaliiko kye bambadde, So tebaliiko kye beebikka empewo nga zifuuwa. 18JOB024.008 They are wet with the showers of the mountains, and embrace the rock for want of a shelter. %%% Batoba n'oluwandaggirize olw'oku nsozi, Era bavumbagira olwazi nga babuliddwa we beggama. 18JOB024.009 They pluck the fatherless from the breast, and take a pledge of the poor. %%% Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere, Ne baggya omusingo ku mwavu: 18JOB024.010 They cause him to go naked without clothing, and they take away the sheaf from the hungry; %%% N'okutambula ne batambula bwereere nga tebalina kye bambadde, Era enjala ng'ebalumye beetikka ebinywa; 18JOB024.011 Which make oil within their walls, and tread their winepresses, and suffer thirst. %%% Bakamulira amafuta mu bisenge by'abasajja abo; Balinya amasogolero gaabwe ne balumwa ennyonta. 18JOB024.012 Men groan from out of the city, and the soul of the wounded crieth out: yet God layeth not folly to them. %%% Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi, Emmeeme y'abo abafumitiddwa n'ekaaba: Naye Katonda takibala okuba obusirusiru. 18JOB024.013 They are of those that rebel against the light; they know not the ways thereof, nor abide in the paths thereof. %%% Abo bali ku muwendo gw'abo abajeemera omusana; Tebamanyi makubo gaagwo, So tebabeerera mu mpenda zaagwo. 18JOB024.014 The murderer rising with the light killeth the poor and needy, and in the night is as a thief. %%% Omussi agolokokera wamu n'omusana, atta omwavu ne yeetaaga; Era ekiro aba ng'omubbi. 18JOB024.015 The eye also of the adulterer waiteth for the twilight, saying, No eye shall see me: and disguiseth his face. %%% Era n'eriiso ly'omwenzi lirindirira ekizikiza, Ng'ayogera nti Tewali liiso erinandaba: Ne yeefuula amaaso ge. 18JOB024.016 In the dark they dig through houses, which they had marked for themselves in the daytime: they know not the light. %%% Mu kizikiza mwe basimira ennyumba: Beggalira emisana; Tebamanyi musana. 18JOB024.017 For the morning is to them even as the shadow of death: if one know them, they are in the terrors of the shadow of death. %%% Kubanga obw'enkya buli ng'ekisiikirize eky'okufa eri abo bonna; Kubanga bamanyi ebitiisa eby'ekisiikirize eky'okufa. 18JOB024.018 He is swift as the waters; their portion is cursed in the earth: he beholdeth not the way of the vineyards. %%% Aba wa mbiro ng'amazzi; Omugabo gwabwe gukolimiddwa ku nsi: Takyukira awali ekkubo ery'ensuku z'emizabbibu. 18JOB024.019 Drought and heat consume the snow waters: so doth the grave those which have sinned. %%% Ekyeya n'ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira: N'amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona. 18JOB024.020 The womb shall forget him; the worm shall feed sweetly on him; he shall be no more remembered; and wickedness shall be broken as a tree. %%% Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga ng'ewoomeddwa; Tajjukirwenga nate: Kale obutali butuukirivu bunaamenyekanga ng'omuti. 18JOB024.021 He evil entreateth the barren that beareth not: and doeth not good to the widow. %%% Alya omugumba atazaala; So takola nnamwandu bulungi. 18JOB024.022 He draweth also the mighty with his power: he riseth up, and no man is sure of life. %%% Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe: Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu. 18JOB024.023 Though it be given him to be in safety, whereon he resteth; yet his eyes are upon their ways. %%% Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo; N'amaaso ge gali ku makubo gaabwe. 18JOB024.024 They are exalted for a little while, but are gone and brought low; they are taken out of the way as all other, and cut off as the tops of the ears of corn. %%% Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze; Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng'abalala bonna, Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano. 18JOB024.025 And if it be not so now, who will make me a liar, and make my speech nothing worth? %%% Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza nga ndi mulimba, N'afuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa? 18JOB025.001 Then answered Bildad the Shuhite, and said, %%% Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti 18JOB025.002 Dominion and fear are with him, he maketh peace in his high places. %%% Okufuga n'entiisa biri naye; Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu. 18JOB025.003 Is there any number of his armies? and upon whom doth not his light arise? %%% Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataviirwayo omusana gwe? 18JOB025.004 How then can man be justified with God? or how can he be clean that is born of a woman? %%% Kale omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi? 18JOB025.005 Behold even to the moon, and it shineth not; yea, the stars are not pure in his sight. %%% Laba, n'omwezi tegulina kumasamasa, N'emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge: 18JOB025.006 How much less man, that is a worm? and the son of man, which is a worm? %%% Okusinga ennyo omuntu, envunyu! N'omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi! 18JOB026.001 But Job answered and said, %%% Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti 18JOB026.002 How hast thou helped him that is without power? how savest thou the arm that hath no strength? %%% Atalina buyinza ng'omubedde so! Omukono ogutalina maanyi ng'ogulokodde so! 18JOB026.003 How hast thou counselled him that hath no wisdom? and how hast thou plentifully declared the thing as it is? %%% Atalina magezi ng’omuweeredde so, N'oyatula bingi nnyo eby'okutegeera obulungi! 18JOB026.004 To whom hast thou uttered words? and whose spirit came from thee? %%% Ani gw'obuulidde ebigambo? N'omwoyo gwani oguwedde mu ggwe? 18JOB026.005 Dead things are formed from under the waters, and the inhabitants thereof. %%% Abaafa bakankana wansi w'amazzi n'ababeera omwo. 18JOB026.006 Hell is naked before him, and destruction hath no covering. %%% Amagombe gali bwereere mu maaso ge, N'okuzikirira tekulina kye kwebikka. 18JOB026.007 He stretcheth out the north over the empty place, and hangeth the earth upon nothing. %%% Abamba obukiika obwa kkono mu bbanga ejjereere, Era awanika ensi awatali kintu. 18JOB026.008 He bindeth up the waters in his thick clouds; and the cloud is not rent under them. %%% Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ekire ne kitayulika wansi we. 18JOB026.009 He holdeth back the face of his throne, and spreadeth his cloud upon it. %%% Aziba obwenyi bw'entebe ye, N'agyaliirako ekire kye. 18JOB026.010 He hath compassed the waters with bounds, until the day and night come to an end. %%% Yassaawo embibi ku maaso g'amazzi, Okutuusa omusana n'ekizikiza we bikoma. 18JOB026.011 The pillars of heaven tremble and are astonished at his reproof. %%% Empagi ez'eggulu zikankana ne zeewuunya olw'okunenya kwe. 18JOB026.012 He divideth the sea with his power, and by his understanding he smiteth through the proud. %%% Afuukuula ennyanja olw'obuyinza bwe, Era afumitira ddala Lakabu olw'okutegeera kwe. 18JOB026.013 By his spirit he hath garnished the heavens; his hand hath formed the crooked serpent. %%% Eggulu liyonjebwa olw'omwoyo gwe; Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka. 18JOB026.014 Lo, these are parts of his ways: but how little a portion is heard of him? but the thunder of his power who can understand? %%% Laba, gano ge mabbali gokka ag'amakubo ge: N'akagambo ke tumuwulirako nga katono! Naye okubwatuka okw'obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera? 18JOB027.001 Moreover Job continued his parable, and said, %%% Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n’ayogera nti 18JOB027.002 As God liveth, who hath taken away my judgment; and the Almighty, who hath vexed my soul; %%% Nga Katonda bw'ali omulamu alidde ensonga yange; Era Omuyinza w'ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange; 18JOB027.003 All the while my breath is in me, and the spirit of God is in my nostrils; %%% (Kubanga obulamu bwange bukyali bulamba mu nze, n'omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange;) 18JOB027.004 My lips shall not speak wickedness, nor my tongue utter deceit. %%% Mazima emimwa gyange tegyogere butali butuukirivu, So n'olulimi lwange terwatule bulimba. 18JOB027.005 God forbid that I should justify you: till I die I will not remove mine integrity from me. %%% Katonda akiddize eri nze okubawa obutuukirivu: Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange. 18JOB027.006 My righteousness I hold fast, and will not let it go: my heart shall not reproach me so long as I live. %%% Obutuukirivu bwange mbunyweza so ssiibutenga: Omutima gwange tegunnenyenga nga nkyali mulamu. 18JOB027.007 Let mine enemy be as the wicked, and he that riseth up against me as the unrighteous. %%% Omulabe wange abe ng'omubi. N'oyo angolokokerako abe ng'atali mutuukirivu. 18JOB027.008 For what is the hope of the hypocrite, though he hath gained, when God taketh away his soul? %%% Kubanga essuubi ly'atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba, Katonda bw'aggyawo obulamu bwe? 18JOB027.009 Will God hear his cry when trouble cometh upon him? %%% Katonda anaawuliranga okukaaba kwe, Ennaku bwe zinaamutuukangako? 18JOB027.010 Will he delight himself in the Almighty? will he always call upon God? %%% Anaasanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, N'akaabira Katonda mu biro byonna? 18JOB027.011 I will teach you by the hand of God: that which is with the Almighty will I not conceal. %%% N'abayigiriza eby'omukono gwa Katonda; Ekiri n'Omuyinza w'ebintu byonna ssiikikweke. 18JOB027.012 Behold, all ye yourselves have seen it; why then are ye thus altogether vain? %%% Laba, mmwe mwenna mmwe bennyini mukirabye; Kale kiki ekyabafuulira ddala abataliiko kye mugasa? 18JOB027.013 This is the portion of a wicked man with God, and the heritage of oppressors, which they shall receive of the Almighty. %%% Guno gwe mugabo gw'omuntu omubi eri Katonda, N'obusika, bw'abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w'ebintu byonna. 18JOB027.014 If his children be multiplied, it is for the sword: and his offspring shall not be satisfied with bread. %%% Abaana be bwe beeyongera, beeyongerera ekitala; N'enda ye terikkuta mmere. 18JOB027.015 Those that remain of him shall be buried in death: and his widows shall not weep. %%% Abanaasigalangawo ku ye banaaziikibwanga mu kufa, ne bannamwandu be tebaakungubagenga. 18JOB027.016 Though he heap up silver as the dust, and prepare raiment as the clay; %%% Newakubadde ng'atuuma ffeeza ng'enfuufu, n'ategeka ebyambalo ng'ettaka; 18JOB027.017 He may prepare it, but the just shall put it on, and the innocent shall divide the silver. %%% Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alikyambala, Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza. 18JOB027.018 He buildeth his house as a moth, and as a booth that the keeper maketh. %%% Azimba ennyumba ye ng'ekiwojjolo, Era ng'ensiisira omukuumi gy'akola. 18JOB027.019 The rich man shall lie down, but he shall not be gathered: he openeth his eyes, and he is not. %%% Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga; Azibula amaaso, kale nga takyaliwo. 18JOB027.020 Terrors take hold on him as waters, a tempest stealeth him away in the night. %%% Ebitiisa bimukwata ng'amazzi; Kibuyaga amutwala kyama kiro. 18JOB027.021 The east wind carrieth him away, and he departeth: and as a storm hurleth him out of his place. %%% Embuyaga ez'ebuvanjuba zimutwalira ddala n'agenda; Ne zimuggya mu kifo kye lwa maanyi. 18JOB027.022 For God shall cast upon him, and not spare: he would fain flee out of his hand. %%% Kubanga Katonda alimukasuukirira n'atasaasira: Yandyagadde okudduka mu mukono gwe. 18JOB027.023 Men shall clap their hands at him, and shall hiss him out of his place. %%% Abantu balimukubira mu ngalo, Era balimusooza ave mu kifo kye. 18JOB028.001 Surely there is a vein for the silver, and a place for gold where they fine it. %%% Mazima waliwo gye basimira ffeeza, N'ekifo kya zaabu gye balongoosa. 18JOB028.002 Iron is taken out of the earth, and brass is molten out of the stone. %%% Ekyuma kiggibwa mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okukiggya mu jjinja. 18JOB028.003 He setteth an end to darkness, and searcheth out all perfection: the stones of darkness, and the shadow of death. %%% Abantu babibira ekizikiza, Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo, Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa. 18JOB028.004 The flood breaketh out from the inhabitant; even the waters forgotten of the foot: they are dried up, they are gone away from men. %%% Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula; Beerabirwa ekigere ekiyitawo: Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi. 18JOB028.005 As for the earth, out of it cometh bread: and under it is turned up as it were fire. %%% Ensi ye evaamu emmere: Era wansi evuunikibwa ng'ekivuunikibwa n'omuliro. 18JOB028.006 The stones of it are the place of sapphires: and it hath dust of gold. %%% Amayinja gaayo kifo kya safiro, Era erina enfuufu eya zaabu. 18JOB028.007 There is a path which no fowl knoweth, and which the vulture's eye hath not seen: %%% Ekkubo eryo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, So n'amaaso ga kamunyi tegalirabanga. 18JOB028.008 The lion's whelps have not trodden it, nor the fierce lion passed by it. %%% Ensolo ezaamalala teziririnnyangamu, So n'empologoma enkambwe teriyitangamu. 18JOB028.009 He putteth forth his hand upon the rock; he overturneth the mountains by the roots. %%% Agolola omukono gwe ku jjinja ery'embaalebaale; Avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka. 18JOB028.010 He cutteth out rivers among the rocks; and his eye seeth every precious thing. %%% Atema ensalosalo mu njazi; N'amaaso ge galaba buli kintu eky'omuwendo omungi. 18JOB028.011 He bindeth the floods from overflowing; and the thing that is hid bringeth he forth to light. %%% Asiba emigga gireme okukulukuta; N'ekigambo ekyakisibwa akireeta awalaba. 18JOB028.012 But where shall wisdom be found? and where is the place of understanding? %%% Naye amagezi ganaalabikanga wa? N'ekifo eky'okutegeera we kubeera kiri ludda wa? 18JOB028.013 Man knoweth not the price thereof; neither is it found in the land of the living. %%% Abantu tebamanyi muwendo gwago; So tegalabika mu nsi ey'abalamu. 18JOB028.014 The depth saith, It is not in me: and the sea saith, It is not with me. %%% Obuziba bwogera nti Tegali mu nze: N'ennyanja eyogera nti Tegali we ndi. 18JOB028.015 It cannot be gotten for gold, neither shall silver be weighed for the price thereof. %%% Tegafunika lwa zaabu, So ne ffeeza teripimibwa okugagula. 18JOB028.016 It cannot be valued with the gold of Ophir, with the precious onyx, or the sapphire. %%% Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu eya Ofiri, Ne onuku ey'omuwendo omungi oba safiro. 18JOB028.017 The gold and the crystal cannot equal it: and the exchange of it shall not be for jewels of fine gold. %%% Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana: So n'amakula aga zaabu ennungi tegaabenga buguzi bwago. 18JOB028.018 No mention shall be made of coral, or of pearls: for the price of wisdom is above rubies. %%% Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu: Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu. 18JOB028.019 The topaz of Ethiopia shall not equal it, neither shall it be valued with pure gold. %%% Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi. 18JOB028.020 Whence then cometh wisdom? and where is the place of understanding? %%% Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa? 18JOB028.021 Seeing it is hid from the eyes of all living, and kept close from the fowls of the air. %%% Kubanga gakwekebwa amaaso g'abalamu bonna, Era gakisibwa ennyonyi ez'omu bbanga. 18JOB028.022 Destruction and death say, We have heard the fame thereof with our ears. %%% Okuzikirira n'Okufa kwogera nti Twawulira ekigambo kyago n'amatu gaffe. 18JOB028.023 God understandeth the way thereof, and he knoweth the place thereof. %%% Katonda ategeera ekkubo lyago, Era ye amanyi ekifo kyago. 18JOB028.024 For he looketh to the ends of the earth, and seeth under the whole heaven; %%% Kubanga atunuulira okutuuka ku nkomerero z'ensi, Era alaba ebiri wansi w'eggulu lyonna; 18JOB028.025 To make the weight for the winds; and he weigheth the waters by measure. %%% Okukolera empewo ekigera; Weewaawo, apima amazzi n'ekipima. 18JOB028.026 When he made a decree for the rain, and a way for the lightning of the thunder: %%% Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka: 18JOB028.027 Then did he see it, and declare it; he prepared it, yea, and searched it out. %%% Awo n'alyoka agalaba n'agabuulira; Yaganyweza, weewaawo, n'agakenneenyeza ddala. 18JOB028.028 And unto man he said, Behold, the fear of the LORD, that is wisdom; and to depart from evil is understanding. %%% Era n'agamba abantu nti Laba, okutya Mukama okwo ge magezi; N'okuleka obubi kwe kutegeera. 18JOB029.001 Moreover Job continued his parable, and said, %%% 1 Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti 18JOB029.002 Oh that I were as in months past, as in the days when God preserved me; %%% Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita, Nga bwe nnali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu; 18JOB029.003 When his candle shined upon my head, and when by his light I walked through darkness; %%% Ettabaaza ye lwe yayakiranga omutwe gwange, N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza; 18JOB029.004 As I was in the days of my youth, when the secret of God was upon my tabernacle; %%% Nga bwe nnali ennaku zange nga zengedde, Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange; 18JOB029.005 When the Almighty was yet with me, when my children were about me; %%% Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga bakyanneetoolodde; 18JOB029.006 When I washed my steps with butter, and the rock poured me out rivers of oil; %%% Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo, N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta! 18JOB029.007 When I went out to the gate through the city, when I prepared my seat in the street! %%% Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga, Bwe nnategekanga entebe yange mu luguudo, 18JOB029.008 The young men saw me, and hid themselves: and the aged arose, and stood up. %%% Abalenzi bandabanga ne beekweka, Abakadde ne bayimukanga ne bayimirira; 18JOB029.009 The princes refrained talking, and laid their hand on their mouth. %%% Abakungu ne balekanga okwogera, Ne bateeka omukono gwabwe kamwa kaabwe; 18JOB029.010 The nobles held their peace, and their tongue cleaved to the roof of their mouth. %%% Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika, Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe. 18JOB029.011 When the ear heard me, then it blessed me; and when the eye saw me, it gave witness to me: %%% Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza; Era eriiso bwe lyandabanga ne liba mujulirwa wange: 18JOB029.012 Because I delivered the poor that cried, and the fatherless, and him that had none to help him. %%% Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba, Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba. 18JOB029.013 The blessing of him that was ready to perish came upon me: and I caused the widow's heart to sing for joy. %%% Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu. 18JOB029.014 I put on righteousness, and it clothed me: my judgment was as a robe and a diadem. %%% Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako: Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule. 18JOB029.015 I was eyes to the blind, and feet was I to the lame. %%% Nabanga amaaso eri omuzibe, Era nabanga ebigere eri awenyera. 18JOB029.016 I was a father to the poor: and the cause which I knew not I searched out. %%% Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya. 18JOB029.017 And I brake the jaws of the wicked, and plucked the spoil out of his teeth. %%% Era namenyanga atali mutuukirivu oluba, Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge, 18JOB029.018 Then I said, I shall die in my nest, and I shall multiply my days as the sand. %%% Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange, Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu: 18JOB029.019 My root was spread out by the waters, and the dew lay all night upon my branch. %%% Emmizi gyange giranze eri amazzi, N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde: 18JOB029.020 My glory was fresh in me, and my bow was renewed in my hand. %%% Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi, N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange. 18JOB029.021 Unto me men gave ear, and waited, and kept silence at my counsel. %%% Nze abantu bampulirizanga ne balinda, Ne basirikira okuteesa kwange. 18JOB029.022 After my words they spake not again; and my speech dropped upon them. %%% Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate; Okwogera kwange ne kubagwako. 18JOB029.023 And they waited for me as for the rain; and they opened their mouth wide as for the latter rain. %%% Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba; Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo. 18JOB029.024 If I laughed on them, they believed it not; and the light of my countenance they cast not down. %%% Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza; N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula. 18JOB029.025 I chose out their way, and sat chief, and dwelt as a king in the army, as one that comforteth the mourners. %%% Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu, Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga. 18JOB030.001 But now they that are younger than I have me in derision, whose fathers I would have disdained to have set with the dogs of my flock. %%% Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange. 18JOB030.002 Yea, whereto might the strength of their hands profit me, in whom old age was perished? %%% Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki? Abantu abaweddemu obuvubuka, 18JOB030.003 For want and famine they were solitary; fleeing into the wilderness in former time desolate and waste. %%% Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala; Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka. 18JOB030.004 Who cut up mallows by the bushes, and juniper roots for their meat. %%% Banoga enkunga awali ebisaka; N'enkolo ez'omwoloola ye mmere yaabwe. 18JOB030.005 They were driven forth from among men, (they cried after them as after a thief;) %%% Bagobebwa wakati mu bantu; Babalangira nga bwe balangira omubbi. 18JOB030.006 To dwell in the cliffs of the valleys, in caves of the earth, and in the rocks. %%% Kibagwanira okubeera mu njatika ez'omu biwonvu, Mu bunnya obw'omu ttaka n'obw'omu njazi. 18JOB030.007 Among the bushes they brayed; under the nettles they were gathered together. %%% Balirira mu bisaka, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira. 18JOB030.008 They were children of fools, yea, children of base men: they were viler than the earth. %%% Baana ba basirusiru, weewaawo, baana ba basajja abatalina linnya; Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi. 18JOB030.009 And now am I their song, yea, I am their byword. %%% Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Weewaawo, ndi kigambo kya buwemu gye bali. 18JOB030.010 They abhor me, they flee far from me, and spare not to spit in my face. %%% Bantamwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso. 18JOB030.011 Because he hath loosed my cord, and afflicted me, they have also let loose the bridle before me. %%% Kubanga asumuludde omugwa gwe n'ambonyaabonya, Era basudde olukoba olugoba mu maaso gange. 18JOB030.012 Upon my right hand rise the youth; they push away my feet, and they raise up against me the ways of their destruction. %%% Ku mukono gwange ogwa ddyo kugolokokera abalalulalu; Basindiikiriza ebigere byange, Era batuuma ku nze amakubo gaabwe ag'okuzikirira. 18JOB030.013 They mar my path, they set forward my calamity, they have no helper. %%% Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye, Abantu ababulwa ow'okubayamba. 18JOB030.014 They came upon me as a wide breaking in of waters: in the desolation they rolled themselves upon me. %%% Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Wakati mu matongo bangwako. 18JOB030.015 Terrors are turned upon me: they pursue my soul as the wind: and my welfare passeth away as a cloud. %%% Ebitiisa bikyuse okungwako, Bayigganya ekitiibwa kyange ng'empewo; N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire. 18JOB030.016 And now my soul is poured out upon me; the days of affliction have taken hold upon me. %%% Era kaakano emmeeme yange efukiddwa munda yange; Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zinkutte. 18JOB030.017 My bones are pierced in me in the night season: and my sinews take no rest. %%% Ekiro amagumba gange gafumitibwa mu nze, N'obubalagaze obunnuma tebuwummula. 18JOB030.018 By the great force of my disease is my garment changed: it bindeth me about as the collar of my coat. %%% Olw'amaanyi amangi ag'endwadde yange ekyambalo kyange kyonoonese: Ensibira ddala ng'ekitogi ky'ekizibawo kyange. 18JOB030.019 He hath cast me into the mire, and I am become like dust and ashes. %%% Ansudde mu bitosi, Era nfuuse ng'enfuufu n'evvu. 18JOB030.020 I cry unto thee, and thou dost not hear me: I stand up, and thou regardest me not. %%% Nkukaabira so tonziramu: Nayimirira, n'ontunuulira. 18JOB030.021 Thou art become cruel to me: with thy strong hand thou opposest thyself against me. %%% Okyuse okuba omukambwe gye ndi: Olw'amaanyi ag'omukono gwo onjigganya. 18JOB030.022 Thou liftest me up to the wind; thou causest me to ride upon it, and dissolvest my substance. %%% Onsitulira awali empewo n'ozinneebagazaako; Era onsaanuusizza mu kibuyaga, 18JOB030.023 For I know that thou wilt bring me to death, and to the house appointed for all living. %%% Kubanga mmanyi ng'olintuusa mu kufa, N'eri ennyumba eyateekerwawo abalamu bonna. 18JOB030.024 Howbeit he will not stretch out his hand to the grave, though they cry in his destruction. %%% Mazima taagololere mukono gwe ku kifuavu ky'ebyagwa; Newakubadde nga bibeera mu kuzikirira kwe, omuntu ayinza okulira olw'ebyo. 18JOB030.025 Did not I weep for him that was in trouble? was not my soul grieved for the poor? %%% Saamukaabira amaziga oyo eyali mu nnaku? Emmeeme yange teyanakuwalira oyo eyeetaaga? 18JOB030.026 When I looked for good, then evil came unto me: and when I waited for light, there came darkness. %%% Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ne biryoka bijja; Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza ne kijja. 18JOB030.027 My bowels boiled, and rested not: the days of affliction prevented me. %%% Ebyenda byange byesera ne bitawummula: Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko. 18JOB030.028 I went mourning without the sun: I stood up, and I cried in the congregation. %%% Ntambula nga mpuubaala awatali njuba: Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe. 18JOB030.029 I am a brother to dragons, and a companion to owls. %%% Ndi muganda w'ebibe, Ne bamaaya ndi munnaabwe. 18JOB030.030 My skin is black upon me, and my bones are burned with heat. %%% Eddiba ery'omubiri gwange liddugadde, linsasambukako, N'amagumba gange gookeddwa n'ebbugumu. 18JOB030.031 My harp also is turned to mourning, and my organ into the voice of them that weep. %%% Ennanga yange kyevudde ekyuka okuwuubaala, N'omulere gwange gufuuse ddoboozi ly'abo abakaaba amaziga. 18JOB031.001 I made a covenant with mine eyes; why then should I think upon a maid? %%% Nalagaana endagaano n’amaaso gange; Kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala? 18JOB031.002 For what portion of God is there from above? and what inheritance of the Almighty from on high? %%% Kubanga omugabo gwa Katonda oguva waggulu kye kiki, N'obusika obw'Omuyinza w'ebintu byonna obuva engulu? 18JOB031.003 Is not destruction to the wicked? and a strange punishment to the workers of iniquity? %%% Si buyinike eri atali mutuukirivu, N'okulaba ennaku eri abakola eby'obujeemu? 18JOB031.004 Doth not he see my ways, and count all my steps? %%% Talaba makubo gange, N'abala ebigere byange byonna? 18JOB031.005 If I have walked with vanity, or if my foot hath hasted to deceit; %%% Oba nga nali ntambudde n'obutaliimu, Oba nga ekigere kyange kyanguye okukuusakuusa; 18JOB031.006 Let me be weighed in an even balance that God may know mine integrity. %%% (Mpimibwe mu minzaani eyenkanankana, Katonda alyoke amanye obutayonoona bwange;) 18JOB031.007 If my step hath turned out of the way, and mine heart walked after mine eyes, and if any blot hath cleaved to mine hands; %%% Oba nga ekigere kyange kyali kikyamye mu kkubo, N'omutima gwange oba nga gwali gugoberedde amaaso gange, Era oba nga ebbala lyonna lyali lyegasse n'engalo zange: 18JOB031.008 Then let me sow, and let another eat; yea, let my offspring be rooted out. %%% Kale nze nsige, omulala alye; Weewaawo, emmere ey'omu nnimiro yange esimbulibwe. 18JOB031.009 If mine heart have been deceived by a woman, or if I have laid wait at my neighbour's door; %%% Omutima gwange oba nga gwali gusendeddwa eri omukazi, Ne nteegera ku mulyango gwa munnange: 18JOB031.010 Then let my wife grind unto another, and let others bow down upon her. %%% Kale mukazi wange aseere omulala, Era abalala bakutame ku ye. 18JOB031.011 For this is an heinous crime; yea, it is an iniquity to be punished by the judges. %%% Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve; Weewaawo, kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: 18JOB031.012 For it is a fire that consumeth to destruction, and would root out all mine increase. %%% Kubanga muliro ogwokya ne guzikiriza, Era ogwagala okusimbula emmere yange yonna. 18JOB031.013 If I did despise the cause of my manservant or of my maidservant, when they contended with me; %%% Oba nga nali nnyoomye ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Bwe bampawaabira: 18JOB031.014 What then shall I do when God riseth up? and when he visiteth, what shall I answer him? %%% Kale ndikola ntya, Katonda bw'aligolokoka? Era bw'alinjijira, ndimuddamu ntya? 18JOB031.015 Did not he that made me in the womb make him? and did not one fashion us in the womb? %%% Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu? 18JOB031.016 If I have withheld the poor from their desire, or have caused the eyes of the widow to fail; %%% Oba nga nali nnyimye abaavu kye beegomba, Oba nali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu; 18JOB031.017 Or have eaten my morsel myself alone, and the fatherless hath not eaten thereof; %%% Oba nali ndidde akamere kange nzekka; So atalina kitaawe taliddeeko. 18JOB031.018 (For from my youth he was brought up with me, as with a father, and I have guided her from my mother's womb;) %%% (Nedda, okuva mu buto bwange yakulira wamu nange nga kitaawe, Ne nnamwandu n'abanga mulezi we okuva mu lubuto lwa mmange;) 18JOB031.019 If I have seen any perish for want of clothing, or any poor without covering; %%% Oba nga nali ndabye n'omu ng'afa olw'okubulwa ebyambalo, Oba eyeetaaga nga talina kye yeebikka: 18JOB031.020 If his loins have not blessed me, and if he were not warmed with the fleece of my sheep; %%% Ekiwato kye oba nga tekyanneebaza, Era oba nga tabugumye na byoya bya ndiga zange; 18JOB031.021 If I have lifted up my hand against the fatherless, when I saw my help in the gate: %%% Oba nga nali nnyimusizza omukono gwange eri atalina kitaawe, Kubanga nalaba anannyamba mu mulyango: 18JOB031.022 Then let mine arm fall from my shoulder blade, and mine arm be broken from the bone. %%% Kale ekibegabega kyange kive ku nkwakwa, N'omukono gwange gukutuke okuva ku ggumba. 18JOB031.023 For destruction from God was a terror to me, and by reason of his highness I could not endure. %%% Kubanga obuyinike obuva eri Katonda bwabanga ntiisa gye ndi, Era olw'obukulu bwe ne ssibaako kye nnyinza kukola. 18JOB031.024 If I have made gold my hope, or have said to the fine gold, Thou art my confidence; %%% Oba nga nali nfudde zaabu okuba essuubi lyange, Era oba nga nali ŋŋambye zaabu ennungi nti Ggwe bwesige bwange; 18JOB031.025 If I rejoiced because my wealth was great, and because mine hand had gotten much; %%% Oba nga nali nsanyuse kubanga obugagga bwange bwali bungi, Era kubanga omukono gwange gwali gufunye bingi; 18JOB031.026 If I beheld the sun when it shined, or the moon walking in brightness; %%% Oba nga nali ntunuulidde enjuba, Oba omwezi nga gutambulira mu kumasamasa; 18JOB031.027 And my heart hath been secretly enticed, or my mouth hath kissed my hand: %%% Omutima gwange ne gusendebwa kyama, Akamwa kange ne kanywegera omukono gwange: 18JOB031.028 This also were an iniquity to be punished by the judge: for I should have denied the God that is above. %%% Era n'ekyo kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: Kubanga nandirimbye Katonda ali waggulu. 18JOB031.029 If I rejoiced at the destruction of him that hated me, or lifted up myself when evil found him: %%% Oba nga nali nsanyukidde oyo eyankyawa ng'azikiridde, Oba nali neeyimusizza obubi bwe bwamulaba; 18JOB031.030 Neither have I suffered my mouth to sin by wishing a curse to his soul. %%% (Weewaawo, saaganya kamwa kange kwonoona Nga nsaba obulamu bwe nga nkolima;) 18JOB031.031 If the men of my tabernacle said not, Oh that we had of his flesh! we cannot be satisfied. %%% Abasajja ab'omu weema yange oba nga tebaayogera nti Ani ayinza okulaba omuntu atakkuse nnyama ye? 18JOB031.032 The stranger did not lodge in the street: but I opened my doors to the traveller. %%% Omugenyi teyasulanga mu luguudo; Naye n'aggulirangawo enzigi zange omutambuze; 18JOB031.033 If I covered my transgressions as Adam, by hiding mine iniquity in my bosom: %%% Oba nga nali mbisse ku kusobya kwange nga Adamu, Nga nkisa obutali butuukirivu bwange mu kifuba kyange; 18JOB031.034 Did I fear a great multitude, or did the contempt of families terrify me, that I kept silence, and went not out of the door? %%% Kubanga nali ntidde ekibiina ekinene, N'okunyoomebwa ebika ne kunkanga, N'okusirika ne nsirika ne ssiva mu mulyango. 18JOB031.035 Oh that one would hear me! behold, my desire is, that the Almighty would answer me, and that mine adversary had written a book. %%% Singa wabaddewo anampulira! (Laba, kano ke kabonero kange Omuyinza w'ebintu byonna anziremu;) Era mba kuba n'ekyo omulabe wange ky'ampawaabidde ky'awandiise! 18JOB031.036 Surely I would take it upon my shoulder, and bind it as a crown to me. %%% Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange; Nandikyesibye nga kiremba. 18JOB031.037 I would declare unto him the number of my steps; as a prince would I go near unto him. %%% Nandimubuulidde ebigere byange bwe byenkana omuwendo; Nandimusemberedde ng'omukungu. 18JOB031.038 If my land cry against me, or that the furrows likewise thereof complain; %%% Ensi yange bw'enempawaabira, N'ebibibi byayo ne bikaabira wamu amaziga; 18JOB031.039 If I have eaten the fruits thereof without money, or have caused the owners thereof to lose their life: %%% Oba nga nali ndidde ebibala byamu awatali ffeeza, Oba nali nfiisizza bannyini yo: 18JOB031.040 Let thistles grow instead of wheat, and cockle instead of barley. The words of Job are ended. %%% Omwennyango gudde mu kifo ky'eŋŋaano. Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu biwedde. 18JOB032.001 So these three men ceased to answer Job, because he was righteous in his own eyes. %%% Awo abasajja abo abasatu ne baleka okuddamu Yobu, kubanga yaii mutuukirivu mu maasoge ye. 18JOB032.002 Then was kindled the wrath of Elihu the son of Barachel the Buzite, of the kindred of Ram: against Job was his wrath kindled, because he justified himself rather than God. %%% Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mntuukirivu so si Katonda. 18JOB032.003 Also against his three friends was his wrath kindled, because they had found no answer, and yet had condemned Job. %%% Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gye bonsatule kubanga tebaalaba kya kuddamu, naye ne basalira Yobu okumusinga. 18JOB032.004 Now Elihu had waited till Job had spoken, because they were elder than he. %%% Era Eriku yali alindiridde okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abaamusinga obukulu. 18JOB032.005 When Elihu saw that there was no answer in the mouth of these three men, then his wrath was kindled. %%% Awo Eriku bwe yalaba nga mu kamwa k'abasajja abo abasatu temuli kya kuddamu, obusungu bwe ne bubuubuuka. 18JOB032.006 And Elihu the son of Barachel the Buzite answered and said, I am young, and ye are very old; wherefore I was afraid, and durst not shew you mine opinion. %%% Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'ayogera nti Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo; Kyennavudde nzibiikiriza ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza. 18JOB032.007 I said, Days should speak, and multitude of years should teach wisdom. %%% Njogedde nti Ennaku ze zandyogedde, Olufulube lw'emyaka lwandiyigirizza amagezi. 18JOB032.008 But there is a spirit in man: and the inspiration of the Almighty giveth them understanding. %%% Naye waliwo omwoyo mu bantu, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gubawa okutegeera. 18JOB032.009 Great men are not always wise: neither do the aged understand judgment. %%% Abakulu si be bagezi, So n'abakadde si be bategeera emisango. 18JOB032.010 Therefore I said, Hearken to me; I also will shew mine opinion. %%% Kyenvudde njogera nti Mumpulire; Era nange naalaga kye ndowooza. 18JOB032.011 Behold, I waited for your words; I gave ear to your reasons, whilst ye searched out what to say. %%% Laba, nnindiridde ebigambo byammwe, Mpulirizza ensonga zammwe, Nga munoonya bye muba mwogera. 18JOB032.012 Yea, I attended unto you, and, behold, there was none of you that convinced Job, or that answered his words: %%% Weewaawo, nteze okutu eri mmwe, Era, laba, nga tewali asinze Yobu, Newakubadde azzeemu ebigambo bye ku mmwe. 18JOB032.013 Lest ye should say, We have found out wisdom: God thrusteth him down, not man. %%% Mwekuume muleme okwogera nti Tulabye amagezi; Mpozzi Katonda ayinza okumuwangula, si bantu: 18JOB032.014 Now he hath not directed his words against me: neither will I answer him with your speeches. %%% Kubanga ebigambo bye tabyolekezza nze; So ssiimuddemu na kwogera kwammwe. 18JOB032.015 They were amazed, they answered no more: they left off speaking. %%% Basamaaliridde, tebakyayanukula: Tebalina kigambo kya kwogera. 18JOB032.016 When I had waited, (for they spake not, but stood still, and answered no more;) %%% Nange naalindirira, kubanga teboogera, Kubanga bayimirira buyimirizi nga tebakyayanukula? 18JOB032.017 I said, I will answer also my part, I also will shew mine opinion. %%% Era nange naayanukula ebyange, Era nange naalaga kye ndowooza. 18JOB032.018 For I am full of matter, the spirit within me constraineth me. %%% Kubanga njijudde ebigambo; Omwoyo gwange oguli mu nze gumpaliriza. 18JOB032.019 Behold, my belly is as wine which hath no vent; it is ready to burst like new bottles. %%% Laba, olubuto lwange luliŋŋanga omwenge ogutaliiko we gufulumira; Ng'amaliba amaggya lwagala okwabika. 18JOB032.020 I will speak, that I may be refreshed: I will open my lips and answer. %%% Naayogera ndyoke mpeereweere; Naayasama emimwa gyange ne nziramu. 18JOB032.021 Let me not, I pray you, accept any man's person, neither let me give flattering titles unto man. %%% Nkwegayiridde, nneme okusosola mu bantu eri omuntu yenna; So ssiiwe muntu yenna mannya ganyumiikiriza. 18JOB032.022 For I know not to give flattering titles; in so doing my maker would soon take me away. %%% Kubanga simanyi kuwa mannya ganyumiikiriza; Omutonzi wange yandinziyeewo mangu. 18JOB033.001 Wherefore, Job, I pray thee, hear my speeches, and hearken to all my words. %%% Naye, Yobu, nkwegayiridde, wulira okwogera kwange, Era tega okutu kwo eri ebigambo byange byonna. 18JOB033.002 Behold, now I have opened my mouth, my tongue hath spoken in my mouth. %%% Laba nno, njasamye akamwa kange, Olulimi lwange lwogedde mu kamwa kange. 18JOB033.003 My words shall be of the uprightness of my heart: and my lips shall utter knowledge clearly. %%% Ebigambo byange binaayatula obugolokofu bw'omutima gwange; N'emimwa gyange bye gimanyi bye ginaayogera awatali bukuusa. 18JOB033.004 The spirit of God hath made me, and the breath of the Almighty hath given me life. %%% Omwoyo gwa Katonda gwe gwankola, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu. 18JOB033.005 If thou canst answer me, set thy words in order before me, stand up. %%% Oba, oyinza, nziraamu: Liraanya ebigambo byo mu maaso gange, oyimirire wakati. 18JOB033.006 Behold, I am according to thy wish in God's stead: I also am formed out of the clay. %%% Laba, ndi awali Katonda era nga ggwe bw'oli: Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka. 18JOB033.007 Behold, my terror shall not make thee afraid, neither shall my hand be heavy upon thee. %%% Laba, entiisa yange teekukange, So n'okunyigiriza kwange tekuukuzitoowerere. 18JOB033.008 Surely thou hast spoken in mine hearing, and I have heard the voice of thy words, saying, %%% Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde eddoboozi ly'ebigambo byo ng'oyogera nti 18JOB033.009 I am clean without transgression, I am innocent; neither is there iniquity in me. %%% Ndi mulongoofu nga ssiriiko kusobya; Ssiriiko musango, so mu nze temuli butali butuukirivu: 18JOB033.010 Behold, he findeth occasions against me, he counteth me for his enemy, %%% Laba, anziyako ensonga, Ampita mulabe we; 18JOB033.011 He putteth my feet in the stocks, he marketh all my paths. %%% Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alabirira amakubo gange gonna. 18JOB033.012 Behold, in this thou art not just: I will answer thee, that God is greater than man. %%% Laba, naakuddamu, mu ekyo tolina nsonga; Kubanga Katonda asinga omuntu obukulu. 18JOB033.013 Why dost thou strive against him? for he giveth not account of any of his matters. %%% Kiki ekikuwakanya naye? Kubanga tabalirira muwendo gwa bigambo bye byonna. 18JOB033.014 For God speaketh once, yea twice, yet man perceiveth it not. %%% Kubanga Katonda ayogera omulundi gumu, Weewaawo, emirundi ebiri, abantu newakubadde nga tebassaayo mwoyo. 18JOB033.015 In a dream, in a vision of the night, when deep sleep falleth upon men, in slumberings upon the bed; %%% Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongoota ku kitanda; 18JOB033.016 Then he openeth the ears of men, and sealeth their instruction, %%% Awo n'alyoka aggula amatu g'abantu, N'ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe, 18JOB033.017 That he may withdraw man from his purpose, and hide pride from man. %%% Aggye abantu mu kuteesa kwabwe, Era akweke abantu amalala; 18JOB033.018 He keepeth back his soul from the pit, and his life from perishing by the sword. %%% Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya, N'obulamu bwe buleme okufa n'ekitala. 18JOB033.019 He is chastened also with pain upon his bed, and the multitude of his bones with strong pain: %%% N'okulumwa kumukangavvula ku kitanda kye, N'okulwana okutamala mu magumba ge: 18JOB033.020 So that his life abhorreth bread, and his soul dainty meat. %%% Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa emmere, N'emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo. 18JOB033.021 His flesh is consumed away, that it cannot be seen; and his bones that were not seen stick out. %%% Omubiri gwe gumalibwawo n'okuyinzika ne gutayinzika kulabibwa; N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala. 18JOB033.022 Yea, his soul draweth near unto the grave, and his life to the destroyers. %%% Weewaawo, emmeeme ye esemberera obunnya, N'obulamu bwe busemberera abazikiriza. 18JOB033.023 If there be a messenger with him, an interpreter, one among a thousand, to shew unto man his uprightness: %%% Oba waliwo wamu naye malayika, Omutegeeza, omu mu lukumi, Okwolesa abantu ebibagwanira; 18JOB033.024 Then he is gracious unto him, and saith, Deliver him from going down to the pit: I have found a ransom. %%% Awo n'amukwatirwa ekisa n'ayogera nti Muwonye aleme okukka mu bunnya, Ndabye ekinunulo. 18JOB033.025 His flesh shall be fresher than a child's: he shall return to the days of his youth: %%% Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw'omwana omuto; Adda mu nnaku z'obuto bwe: 18JOB033.026 He shall pray unto God, and he will be favourable unto him: and he shall see his face with joy: for he will render unto man his righteousness. %%% Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa; N'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu: Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe. 18JOB033.027 He looketh upon men, and if any say, I have sinned, and perverted that which was right, and it profited me not; %%% Ayimbira mu maaso g'abantu n'ayogera nti Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi, So ssiriiko kye nnagasibwa: 18JOB033.028 He will deliver his soul from going into the pit, and his life shall see the light. %%% Anunudde emmeeme yange obutakka mu bunnya. N'obulamu bwange bunaatunuuliranga omusana. 18JOB033.029 Lo, all these things worketh God oftentimes with man, %%% Laba, ebyo byonna Katonda abikola, Emirundi ebiri, weewaawo, n'esatu eri omuntu, 18JOB033.030 To bring back his soul from the pit, to be enlightened with the light of the living. %%% Okukomyawo emmeeme ye mu bunnya, Ayakirwe omusana ogw'abalamu. 18JOB033.031 Mark well, O Job, hearken unto me: hold thy peace, and I will speak. %%% Weetegereze nnyo, ai Yobu, ompulire: Sirika, nange naayogera. 18JOB033.032 If thou hast anything to say, answer me: speak, for I desire to justify thee. %%% Oba nga olina eky'okwogera nziraamu: Yogera, kubanga njagala okukufuula omutuukirivu. 18JOB033.033 If not, hearken unto me: hold thy peace, and I shall teach thee wisdom. %%% Oba nga si weewaawo, mpulira: Sirika, nange naakuyigiriza amagezi. 18JOB034.001 Furthermore Elihu answered and said, %%% Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti 18JOB034.002 Hear my words, O ye wise men; and give ear unto me, ye that have knowledge. %%% Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab'amagezi; Era mutege okutu gye ndi, mmwe abalina okutegeera. 18JOB034.003 For the ear trieth words, as the mouth tasteth meat. %%% Kubanga okutu kukema ebigambo, Ng'amatama bwe galega ku mmere. 18JOB034.004 Let us choose to us judgment: let us know among ourselves what is good. %%% Twerondere ekyo ekinaaba eky'ensonga: Tumanye fekka na fekka ebirungi bwe biri. 18JOB034.005 For Job hath said, I am righteous: and God hath taken away my judgment. %%% Kubanga Yobu ayogedde nti Nze ndi mutuukirivu, Era nti Katonda anziyeeko ensonga yange: 18JOB034.006 Should I lie against my right? my wound is incurable without transgression. %%% Newakubadde nga nnina ensonga mpitibwa mulimba; Ekiwundu kyange tekiwonyezeka, newakubadde nga ssiriiko kusobya. 18JOB034.007 What man is like Job, who drinketh up scorning like water? %%% Muntu ki afaanana Yobu, Anywa okunyoomebwa ng'amazzi? 18JOB034.008 Which goeth in company with the workers of iniquity, and walketh with wicked men. %%% Atambulira awamu n'abakola ebitali bya butuukirivu, Era atambulira awamu n'abasajja ababi. 18JOB034.009 For he hath said, It profiteth a man nothing that he should delight himself with God. %%% Kubanga ayogedde nti Omuntu tekiriiko kye kimugasa Okusanyukira Katonda. 18JOB034.010 Therefore hearken unto me ye men of understanding: far be it from God, that he should do wickedness; and from the Almighty, that he should commit iniquity. %%% Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera: Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi; N'awali Omuyinza w'ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu. 18JOB034.011 For the work of a man shall he render unto him, and cause every man to find according to his ways. %%% Kubanga alisasula omuntu omulimu gwe, Era alirabya buli muntu ng'amakubo ge bwe gali. 18JOB034.012 Yea, surely God will not do wickedly, neither will the Almighty pervert judgment. %%% Weewaawo, mazima Katonda taakolenga bubi, So n'Omuyinza w'ebintu byonna taalyenga nsonga. 18JOB034.013 Who hath given him a charge over the earth? or who hath disposed the whole world? %%% Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka ebintu byonna bwe byenkana? 18JOB034.014 If he set his heart upon man, if he gather unto himself his spirit and his breath; %%% Bw'ateeka omutima gwe ku bantu, Bw'akuŋŋaanyiza gy'ali omwoyo gwe n'omukka gwe; 18JOB034.015 All flesh shall perish together, and man shall turn again unto dust. %%% Byonna ebirina omubiri birizikiririra wamu, Abantu ne badda mu nfuufu. 18JOB034.016 If now thou hast understanding, hear this: hearken to the voice of my words. %%% Kale oba olina okutegeera, wulira kino: Wulira eddoboozi ly'ebigambo byange. 18JOB034.017 Shall even he that hateth right govern? and wilt thou condemn him that is most just? %%% Akyawa eby'ensonga oyo alifuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi okumusinga? 18JOB034.018 Is it fit to say to a king, Thou art wicked? and to princes, Ye are ungodly? %%% Kirungi okugamba kabaka nti Ggwe oli mugwagwa? Oba abakungu nti Mmwe muli babi? 18JOB034.019 How much less to him that accepteth not the persons of princes, nor regardeth the rich more than the poor? for they all are the work of his hands. %%% Okusinga ennyo si kirungi okugamba oyo atatya maaso ga balangira, So talowooza mugagga okusinga omwavu? Kubanga bonna mulimu gwa mikono gye. 18JOB034.020 In a moment shall they die, and the people shall be troubled at midnight, and pass away: and the mighty shall be taken away without hand. %%% Bafa mu kaseera akatono, mu ttuntu; Abantu bakankanyizibwa ne bayitawo, N'ab'amaanyi baggibwawo awatali mukono. 18JOB034.021 For his eyes are upon the ways of man, and he seeth all his goings. %%% Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag'omuntu, Era alaba okutambula kwe kwonna. 18JOB034.022 There is no darkness, nor shadow of death, where the workers of iniquity may hide themselves. %%% Tewali kizikiza newakubadde ekisiikirize eky'okufa, Abakola ebitali bya butuukirivu we bayinza okwekweka. 18JOB034.023 For he will not lay upon man more than right; that he should enter into judgment with God. %%% Kubanga teyeetaaga kweyongera kulowooza omuntu, Atuuke mu maaso ga Katonda okusalirwa omusango. 18JOB034.024 He shall break in pieces mighty men without number, and set others in their stead. %%% Amenyamenya abasajja ab'amaanyi mu ngeri etenoonyezeka, Era assaawo abalala mu kifo kyabwe. 18JOB034.025 Therefore he knoweth their works, and he overturneth them in the night, so that they are destroyed. %%% Kyava alabirira emirimu gyabwe; Era abavuunika kiro n'okuzikirizibwa ne bazikirizibwa. 18JOB034.026 He striketh them as wicked men in the open sight of others; %%% Abakuba ng'ababi Mu maaso g'abalala aweeru; 18JOB034.027 Because they turned back from him, and would not consider any of his ways: %%% Kubanga bakyama obutamugoberera, So tebayagala kussaayo mwoyo eri amakubo ge gonna: 18JOB034.028 So that they cause the cry of the poor to come unto him, and he heareth the cry of the afflicted. %%% N'okutuusa ne batuusa gy'ali okukaaba kw'omwavu, N'awulira okukaaba kw'abo ababonyaabonyezebwa. 18JOB034.029 When he giveth quietness, who then can make trouble? and when he hideth his face, who then can behold him? whether it be done against a nation, or against a man only: %%% Ye bw'awa okutereera, kale ani ayinza okusala omusango okusinga? Era ye bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumutunuulira? Oba nga ggwanga oba nga muntu, kyonna bwe bumu: 18JOB034.030 That the hypocrite reign not, lest the people be ensnared. %%% Omusajja atamanyi Katonda alemenga okufuga, Walemenga okubaawo anaateega abantu. 18JOB034.031 Surely it is meet to be said unto God, I have borne chastisement, I will not offend any more: %%% Kubanga waliwo eyali agambye Katonda, nti Mbonerezebbwa, sikyasobya nate: 18JOB034.032 That which I see not teach thou me: if I have done iniquity, I will do no more. %%% Kye ssiraba kinjigirize: Oba nga nkoze obujeemu ssikyabukola nate? 18JOB034.033 Should it be according to thy mind? he will recompense it, whether thou refuse, or whether thou choose; and not I: therefore speak what thou knowest. %%% Empeera ye eriba nga ggwe bw'oyagala n'okugaana n'ogigaana? Kubanga ggwe oba weeroboza so si nze: Kale yogera ekyo ky'omanyi. 18JOB034.034 Let men of understanding tell me, and let a wise man hearken unto me. %%% Abantu abalina okutegeera baligamba nti Weewaawo, buli muntu ow'amagezi ampulira, anaŋŋamba nti 18JOB034.035 Job hath spoken without knowledge, and his words were without wisdom. %%% Yobu ayogera nga talina kumanya, N'ebigambo bye tebiriimu magezi, 18JOB034.036 My desire is that Job may be tried unto the end because of his answers for wicked men. %%% Yobu singa akemeddwa okutuusa enkomerero, Kubanga ayanukula ng'abantu ababi. 18JOB034.037 For he addeth rebellion unto his sin, he clappeth his hands among us, and multiplieth his words against God. %%% Kubanga ayongera obujeemu ku kwonoona kwe, Akuba mu ngalo ze ng'ayima wakati mu ffe, Era ayongerayongera ebigambo bye okuwakanya Katonda. 18JOB035.001 Elihu spake moreover, and said, %%% Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti 18JOB035.002 Thinkest thou this to be right, that thou saidst, My righteousness is more than God's? %%% Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo, Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda? 18JOB035.003 For thou saidst, What advantage will it be unto thee? and, What profit shall I have, if I be cleansed from my sin? %%% N'okwogera n'oyogera nti Kirikugasa ki? Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona? 18JOB035.004 I will answer thee, and thy companions with thee. %%% Nze nnaakuddamu, Ne banno wamu naawe. 18JOB035.005 Look unto the heavens, and see; and behold the clouds which are higher than thou. %%% Tunuulira eggulu olabe; Era ttunuulira eggulu erikusinga obugulumivu. 18JOB035.006 If thou sinnest, what doest thou against him? or if thy transgressions be multiplied, what doest thou unto him? %%% Oba nga oyonoonye omukola ki? Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki? 18JOB035.007 If thou be righteous, what givest thou him? or what receiveth he of thine hand? %%% Bw'oba n'obutuukirivu, omuwa ki? Oba aweebwa ki mu mukono gwo? 18JOB035.008 Thy wickedness may hurt a man as thou art; and thy righteousness may profit the son of man. %%% Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw'oli; N'obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w'omuntu. 18JOB035.009 By reason of the multitude of oppressions they make the oppressed to cry: they cry out by reason of the arm of the mighty. %%% Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba; Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi. 18JOB035.010 But none saith, Where is God my maker, who giveth songs in the night; %%% Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa, Awa ennyimba ekiro; 18JOB035.011 Who teacheth us more than the beasts of the earth, and maketh us wiser than the fowls of heaven? %%% Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi, Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez'omu bbanga? 18JOB035.012 There they cry, but none giveth answer, because of the pride of evil men. %%% Bakaabira eyo, naye tewali addamu, Olw'amalala ag'abantu ababi. 18JOB035.013 Surely God will not hear vanity, neither will the Almighty regard it. %%% Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu, So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo. 18JOB035.014 Although thou sayest thou shalt not see him, yet judgment is before him; therefore trust thou in him. %%% Kale aliwulira atya bw'oyogera nti tomulaba, Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira? 18JOB035.015 But now, because it is not so, he hath visited in his anger; yet he knoweth it not in great extremity: %%% Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe, So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti; 18JOB035.016 Therefore doth Job open his mouth in vain; he multiplieth words without knowledge. %%% Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu; Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya. 18JOB036.001 Elihu also proceeded, and said, %%% Era nate Eriku ne yeeyongera n'ayogera nti 18JOB036.002 Suffer me a little, and I will shew thee that I have yet to speak on God's behalf. %%% Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola; Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda. 18JOB036.003 I will fetch my knowledge from afar, and will ascribe righteousness to my Maker. %%% Naggya wala okumanya kwange, Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange. 18JOB036.004 For truly my words shall not be false: he that is perfect in knowledge is with thee. %%% Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe. 18JOB036.005 Behold, God is mighty, and despiseth not any: he is mighty in strength and wisdom. %%% Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma mnntu yenna: Wa maanyi mu buyinza obw'okutegeera. 18JOB036.006 He preserveth not the life of the wicked: but giveth right to the poor. %%% Takuuma bulamu bw'ababi: Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe. 18JOB036.007 He withdraweth not his eyes from the righteous: but with kings are they on the throne; yea, he doth establish them for ever, and they are exalted. %%% Taggya maaso ge ku batuukirivu Naye awali bakabaka ku ntebe Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa. 18JOB036.008 And if they be bound in fetters, and be holden in cords of affliction; %%% Era bwe baba nga basibiddwa n'amasamba, Era nga bakwasibwa n'emigwa egy'okubonyabonyezebwa; 18JOB036.009 Then he sheweth them their work, and their transgressions that they have exceeded. %%% Kale n'abalaga omulimu gwabwe, N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala. 18JOB036.010 He openeth also their ear to discipline, and commandeth that they return from iniquity. %%% Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa, N'abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu. 18JOB036.011 If they obey and serve him, they shall spend their days in prosperity, and their years in pleasures. %%% Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa, N'emyaka gyabwe nga basanyuka. 18JOB036.012 But if they obey not, they shall perish by the sword, and they shall die without knowledge. %%% Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala, Era banaafanga awatali kumanya. 18JOB036.013 But the hypocrites in heart heap up wrath: they cry not when he bindeth them. %%% Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu: Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba. 18JOB036.014 They die in youth, and their life is among the unclean. %%% Bafa nga bakyali bato, N'obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu. 18JOB036.015 He delivereth the poor in his affliction, and openeth their ears in oppression. %%% Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe, Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa. 18JOB036.016 Even so would he have removed thee out of the strait into a broad place, where there is no straitness; and that which should be set on thy table should be full of fatness. %%% Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa; N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu. 18JOB036.017 But thou hast fulfilled the judgment of the wicked: judgment and justice take hold on thee. %%% Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi: Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata. 18JOB036.018 Because there is wrath, beware lest he take thee away with his stroke: then a great ransom cannot deliver thee. %%% Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n'obugagga So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene. 18JOB036.019 Will he esteem thy riches? no, not gold, nor all the forces of strength. %%% Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku, Oba obuyinza bwonna obw'amaanyi go? 18JOB036.020 Desire not the night, when people are cut off in their place. %%% Teweegomba kiro, Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago. 18JOB036.021 Take heed, regard not iniquity: for this hast thou chosen rather than affliction. %%% Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu: Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa. 18JOB036.022 Behold, God exalteth by his power: who teacheth like him? %%% Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe: Ani omuyigiriza afaanana ye? 18JOB036.023 Who hath enjoined him his way? or who can say, Thou hast wrought iniquity? %%% Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu? 18JOB036.024 Remember that thou magnify his work, which men behold. %%% Jjukira okugulumizanga omulimu gwe, Abantu gwe baayimbangako. 18JOB036.025 Every man may see it; man may behold it afar off. %%% Abantu bonna baagutunuulira; Abantu baagulengera nga bayima wala. 18JOB036.026 Behold, God is great, and we know him not, neither can the number of his years be searched out. %%% Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Omuwendo gw'emyaka gye tegunoonyezeka. 18JOB036.027 For he maketh small the drops of water: they pour down rain according to the vapour thereof: %%% Kubanga awalula waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe: 18JOB036.028 Which the clouds do drop and distil upon man abundantly. %%% Eggulu ge liyiwa Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo. 18JOB036.029 Also can any understand the spreadings of the clouds, or the noise of his tabernacle? %%% Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa, Okubwatuuka okw'omu weema ye? 18JOB036.030 Behold, he spreadeth his light upon it, and covereth the bottom of the sea. %%% Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola; Era asaanikira ku nnyanja wansi. 18JOB036.031 For by them judgeth he the people; he giveth meat in abundance. %%% Kubanga olw'ebyo asala emisango gy'amawanga; Agaba emmere nnyingi nnyo. 18JOB036.032 With clouds he covereth the light; and commandeth it not to shine by the cloud that cometh betwixt. %%% Abikka engalo ze n'enjota; Era aziragira zikube sabbaawa. 18JOB036.033 The noise thereof sheweth concerning it, the cattle also concerning the vapour. %%% Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye, Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka. 18JOB037.001 At this also my heart trembleth, and is moved out of his place. %%% Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo. 18JOB037.002 Hear attentively the noise of his voice, and the sound that goeth out of his mouth. %%% Muwulire okuwuuma kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke. 18JOB037.003 He directeth it under the whole heaven, and his lightning unto the ends of the earth. %%% Akusindika wansi w'eggulu lyonna, N'okumyansa kwe kubuna enkomerero z'ensi. 18JOB037.004 After it a voice roareth: he thundereth with the voice of his excellency; and he will not stay them when his voice is heard. %%% Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma; Abwaluka n'eddoboozi ery'obukulu bwe: So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa. 18JOB037.005 God thundereth marvellously with his voice; great things doeth he, which we cannot comprehend. %%% Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye; Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera. 18JOB037.006 For he saith to the snow, Be thou on the earth; likewise to the small rain, and to the great rain of his strength. %%% Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi; Era bw'atyo bw'agamba oluwandaggirize, N'empandaggirize ez'enkuba ye ey'amaanyi. 18JOB037.007 He sealeth up the hand of every man; that all men may know his work. %%% Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu; Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye. 18JOB037.008 Then the beasts go into dens, and remain in their places. %%% Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero, Ne zibeera mu mpuku zaazo, 18JOB037.009 Out of the south cometh the whirlwind: and cold out of the north. %%% Mu kisenge eky'obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga: Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono. 18JOB037.010 By the breath of God frost is given: and the breadth of the waters is straitened. %%% Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira: N'amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata. 18JOB037.011 Also by watering he wearieth the thick cloud: he scattereth his bright cloud: %%% Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi; Abamba ekire eky'enjota ze: 18JOB037.012 And it is turned round about by his counsels: that they may do whatsoever he commandeth them upon the face of the world in the earth. %%% Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi, Bikolenga byonna by'abiragira Kungulu ku nsi yonna okubeereka: 18JOB037.013 He causeth it to come, whether for correction, or for his land, or for mercy. %%% Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye, Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta. 18JOB037.014 Hearken unto this, O Job: stand still, and consider the wondrous works of God. %%% Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby'ekitalo. 18JOB037.015 Dost thou know when God disposed them, and caused the light of his cloud to shine? %%% Omanyi Katonda bw'abikuutira, N'ayasa enjota ez'omu kire kye? 18JOB037.016 Dost thou know the balancings of the clouds, the wondrous works of him which is perfect in knowledge? %%% Omanyi okutereezebwa kw'ebire, Ebikolwa eby'ekitalo eby'oyo eyatuukirira mu kumanya? 18JOB037.017 How thy garments are warm, when he quieteth the earth by the south wind? %%% Ebyambalo byo bwe bibuguma, Ensi ng'esirise olw'embuyaga ez'obukiika obwa ddyo? 18JOB037.018 Hast thou with him spread out the sky, which is strong, and as a molten looking glass? %%% Oyinza okubambira eggulu awamu naye, Amaanyi gaalyo genkana endabirwamu ensaanuuse? 18JOB037.019 Teach us what we shall say unto him; for we cannot order our speech by reason of darkness. %%% Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw'ekizikiza. 18JOB037.020 Shall it be told him that I speak? if a man speak, surely he shall be swallowed up. %%% Anaabuulirwa nga njagala okwogera? Oba omuntu yandyagadde okumirwa? 18JOB037.021 And now men see not the bright light which is in the clouds: but the wind passeth, and cleanseth them. %%% Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu: Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula. 18JOB037.022 Fair weather cometh out of the north: with God is terrible majesty. %%% Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu: Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga. 18JOB037.023 Touching the Almighty, we cannot find him out: he is excellent in power, and in judgment, and in plenty of justice: he will not afflict. %%% Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya. 18JOB037.024 Men do therefore fear him: he respecteth not any that are wise of heart. %%% Abantu kyebava bamutya: abassaako omwoyo abo bonna abalina emitima egy'amagezi. 18JOB038.001 Then the LORD answered Job out of the whirlwind, and said, %%% Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti 18JOB038.002 Who is this that darkeneth counsel by words without knowledge? %%% Ani ono aleeta akizikiza mu kuteesa N'ebigambo ebitaliimu kumanya? 18JOB038.003 Gird up now thy loins like a man; for I will demand of thee, and answer thou me. %%% Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja; Kubanga naakubuuza, naawe onziremu. 18JOB038.004 Where wast thou when I laid the foundations of the earth? declare, if thou hast understanding. %%% Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi? Yatula oba olina okutegeera. 18JOB038.005 Who hath laid the measures thereof, if thou knowest? or who hath stretched the line upon it? %%% Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omugwa? 18JOB038.006 Whereupon are the foundations thereof fastened? or who laid the corner stone thereof; %%% Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery'oku nsonda; 18JOB038.007 When the morning stars sang together, and all the sons of God shouted for joy? %%% Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu? 18JOB038.008 Or who shut up the sea with doors, when it brake forth, as if it had issued out of the womb? %%% Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi, Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto; 18JOB038.009 When I made the cloud the garment thereof, and thick darkness a swaddlingband for it, %%% Bwe nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okubikka, 18JOB038.010 And brake up for it my decreed place, and set bars and doors, %%% Bwe nnagiragira etteeka lyange, Ne nzisaawo ebisiba n'enzigi, 18JOB038.011 And said, Hitherto shalt thou come, but no further: and here shall thy proud waves be stayed? %%% Ne njogera nti Wano w'okomanga so tosukkangawo; Era wano amayengo go ag'amalala we gaziyirizibwanga? 18JOB038.012 Hast thou commanded the morning since thy days; and caused the dayspring to know his place; %%% Wali olagidde enkya ennaku zo kasookedde zibaawo, Wali omanyisizza emmambya ekifo kyayo; 18JOB038.013 That it might take hold of the ends of the earth, that the wicked might be shaken out of it? %%% Ekwate enkomerero z'ensi, Era ababi bakunkumulwe okugivaamu? 18JOB038.014 It is turned as clay to the seal; and they stand as a garment. %%% Ewaanyisibwa ng'ebbumba wansi w'akabonero; N'ebintu byonna bikukunuka ng'ekyambalo: 18JOB038.015 And from the wicked their light is withholden, and the high arm shall be broken. %%% N'ababi omusana gwabwe gubaggibwako, N'omukono ogugulumizibwa gumenyeka. 18JOB038.016 Hast thou entered into the springs of the sea? or hast thou walked in the search of the depth? %%% Wali oyingidde mu nsulo ez'ennyanja? Oba wali otambudde mu madubi ag'obuziba? 18JOB038.017 Have the gates of death been opened unto thee? or hast thou seen the doors of the shadow of death? %%% Enzigi ez'okufa zaali zikubikkuliddwa? Oba wali olabye enzigi ez'ekisiikirize eky'okufa? 18JOB038.018 Hast thou perceived the breadth of the earth? declare if thou knowest it all. %%% Wali otegedde ensi bw'eri engazi? Yatula, oba nga obimanyi byonna. 18JOB038.019 Where is the way where light dwelleth? and as for darkness, where is the place thereof, %%% Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey'omusana, N'ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa; 18JOB038.020 That thou shouldest take it to the bound thereof, and that thou shouldest know the paths to the house thereof? %%% Ggwe okukiwerekera ku mbibi yaakyo? Era otegeere okutuuka ku nnyumba yaakyo? 18JOB038.021 Knowest thou it, because thou wast then born? or because the number of thy days is great? %%% Omanyi, kubanga wali ozaaliddwa mu biro ebyo; N'omuwendo gw'ennaku zo mungi! 18JOB038.022 Hast thou entered into the treasures of the snow? or hast thou seen the treasures of the hail, %%% Wali oyingidde mu mawanika g'amazzi amakwafu, Oba wali olabye amawanika ag'omuzira, 18JOB038.023 Which I have reserved against the time of trouble, against the day of battle and war? %%% Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku, Olunaku olw'olutalo n'obulwa? 18JOB038.024 By what way is the light parted, which scattereth the east wind upon the earth? %%% Mu kkubo ki omusana mwe gwawukanira, Oba embuyaga ez'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi? 18JOB038.025 Who hath divided a watercourse for the overflowing of waters, or a way for the lightning of thunder; %%% Ani eyasalira amataba olusalosalo, Oba ekkubo ery'enjota ez'okubwatuka; 18JOB038.026 To cause it to rain on the earth, where no man is; on the wilderness, wherein there is no man; %%% Okutonnyesa enkuba ku nsi okutali muntu; Mu ddungu omutali muntu n'omu; 18JOB038.027 To satisfy the desolate and waste ground; and to cause the bud of the tender herb to spring forth? %%% Okukkusa ettaka eryazika eryalekebwa; N'okulosa omuddo omuto? 18JOB038.028 Hath the rain a father? or who hath begotten the drops of dew? %%% Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo? 18JOB038.029 Out of whose womb came the ice? and the hoary frost of heaven, who hath gendered it? %%% Mu lubuto lw'ani omwava amazzi amakwafu? N'omusulo omukwafu omweru ogw'omu ggulu ani eyaguzaala? 18JOB038.030 The waters are hid as with a stone, and the face of the deep is frozen. %%% Amazzi gakwekebwa nga gakwekeddwa n'amayinja. Ne kungulu ku buziba nga kukutte. 18JOB038.031 Canst thou bind the sweet influences of Pleiades, or loose the bands of Orion? %%% Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga, Oba okusumulula olukoba lw'Entungalugoye? 18JOB038.032 Canst thou bring forth Mazzaroth in his season? or canst thou guide Arcturus with his sons? %%% Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Nabaliyo n'abaana be? 18JOB038.033 Knowest thou the ordinances of heaven? canst thou set the dominion thereof in the earth? %%% Omanyi ebiragiro eby'omu ggulu? Oyinza okunyweza okufuga kwalyo mu nsi? 18JOB038.034 Canst thou lift up thy voice to the clouds, that abundance of waters may cover thee? %%% Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire, Amazzi amangi ennyo gakubikkeko? 18JOB038.035 Canst thou send lightnings, that they may go, and say unto thee, Here we are? %%% Oyinza okuweereza enjota zitambule, Ne zikugamba nti Ffe tuutuno? 18JOB038.036 Who hath put wisdom in the inward parts? or who hath given understanding to the heart? %%% Ani eyateeka amagezi mu bitundu eby'omunda? Oba ani eyawa emmeeme okutegeera? 18JOB038.037 Who can number the clouds in wisdom? or who can stay the bottles of heaven, %%% Ani ayinza okubala ebire olw'amagezi? Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag'omu ggulu, 18JOB038.038 When the dust groweth into hardness, and the clods cleave fast together? %%% Enfuufu bw'ekulukuta n'eba effunfugu, Amafunfugu ne geegattira ddala? 18JOB038.039 Wilt thou hunt the prey for the lion? or fill the appetite of the young lions, %%% Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo? Oba onokkusa okwegomba kw'abaana b'empologoma, 18JOB038.040 When they couch in their dens, and abide in the covert to lie in wait? %%% Bwe zisula mu mpuku zaazo, Ne zibeera mu bisaka okuteega? 18JOB038.041 Who provideth for the raven his food? when his young ones cry unto God, they wander for lack of meat. %%% Ani alabira namuŋŋoona emmere ye, Abaana be bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula olw'okubulwa ebyokulya? 18JOB039.001 Knowest thou the time when the wild goats of the rock bring forth? or canst thou mark when the hinds do calve? %%% Omanyi ebiro embulabuzi ez'oku njazi mwe zizaalira? Oba oyinza okutegeera empeewo bwe ziba n'amawako? 18JOB039.002 Canst thou number the months that they fulfil? or knowest thou the time when they bring forth? %%% Oyinza okubala emyezi gye zimala? Oba omanyi ebiro mwe zizaalira? 18JOB039.003 They bow themselves, they bring forth their young ones, they cast out their sorrows. %%% Zikutama, zizaala abaana baazo, Zeggyamu obubalagaze bwazo. 18JOB039.004 Their young ones are in good liking, they grow up with corn; they go forth, and return not unto them. %%% Abaana baazo bagejja, bakulira ebweru ku ttale; Bafuluma ne batadda. 18JOB039.005 Who hath sent out the wild ass free? or who hath loosed the bands of the wild ass? %%% Ani eyata entulege okuba ey'eddembe? Oba ani eyasumulula enkoba ez'entulege? 18JOB039.006 Whose house I have made the wilderness, and the barren land his dwellings. %%% Nafuula ensiko okuba ennyumba yaayo, N'ensi ey'omunnyo okuba ekifo w'ebeera. 18JOB039.007 He scorneth the multitude of the city, neither regardeth he the crying of the driver. %%% Enyooma oluyoogaano olw’omu kibuga, So tewulira kulekaana kwa mugobi. 18JOB039.008 The range of the mountains is his pasture, and he searcheth after every green thing. %%% Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo, Era enoonya buli kintu ekibisi. 18JOB039.009 Will the unicorn be willing to serve thee, or abide by thy crib? %%% Embogo enekkirizanga okukuweereza? Oba eneebeeranga awali ekisibo kyo? 18JOB039.010 Canst thou bind the unicorn with his band in the furrow? or will he harrow the valleys after thee? %%% Oyinza okusiba embogo n'olukoba lwayo ku kibibi? Oba eneerimanga ebiwonvu ng'ekuvaako ennyuma? 18JOB039.011 Wilt thou trust him, because his strength is great? or wilt thou leave thy labour to him? %%% Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi? Oba onoogirekeranga omulimu gwo? 18JOB039.012 Wilt thou believe him, that he will bring home thy seed, and gather it into thy barn? %%% Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo, N'okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey'omu gguuliro lyo? 18JOB039.013 Gavest thou the goodly wings unto the peacocks? or wings and feathers unto the ostrich? %%% Ekiwaawaatiro kya maaya kisanyuka; Naye ebiwaawaatiro bye n'ebyoya birina ekisa? 18JOB039.014 Which leaveth her eggs in the earth, and warmeth them in dust, %%% Kubanga aleka amagi ge ku ttaka, N'egabugumya mu musenyu, 18JOB039.015 And forgetteth that the foot may crush them, or that the wild beast may break them. %%% Ne yeerabira ng'ekigere kiyinza okugabetenta, Oba ensolo ey'omu nsiko eyinza okugalinnyirira. 18JOB039.016 She is hardened against her young ones, as though they were not hers: her labour is in vain without fear; %%% Akakanyalira abaana be ng'abatali babe: Newakubadde ng'ateganira bwereere talina kutya; 18JOB039.017 Because God hath deprived her of wisdom, neither hath he imparted to her understanding. %%% Kubanga Katonda yamuggyako amagezi, So tamuwadde kutegeera. 18JOB039.018 What time she lifteth up herself on high, she scorneth the horse and his rider. %%% Bw'aba nga yeegulumizizza, Anyooma embalaasi n'oyo agyebagala. 18JOB039.019 Hast thou given the horse strength? hast thou clothed his neck with thunder? %%% Wawa embalaasi amaanyi gaayo? Wayambaza obulago bwayo n'olugiŋŋirima olukankana? 18JOB039.020 Canst thou make him afraid as a grasshopper? the glory of his nostrils is terrible. %%% Wagibuusa ng'enzige? Ekitiibwa ky'okufugula kwayo kya ntiisa. 18JOB039.021 He paweth in the valley, and rejoiceth in his strength: he goeth on to meet the armed men. %%% Etakulira mu kiwonvu, n'esanyukira amaanyi gaayo: Efuluma okusisinkana n'abasajja abakutte ebyokulwanyisa. 18JOB039.022 He mocketh at fear, and is not affrighted; neither turneth he back from the sword. %%% Esekerera okutya so tekeŋŋentererwa; so tedda nnyuma awali ekitala. 18JOB039.023 The quiver rattleth against him, the glittering spear and the shield. %%% Omufuko guwulungutira ku yo, Effumu erimasamasa n'akasaale. 18JOB039.024 He swalloweth the ground with fierceness and rage: neither believeth he that it is the sound of the trumpet. %%% Emira ettaka n'obusungu n'ekiruyi; So tekkiriza nga lye ddoboozi ery'ekkondeere. 18JOB039.025 He saith among the trumpets, Ha, ha; and he smelleth the battle afar off, the thunder of the captains, and the shouting. %%% Ekkondeere buli lwe livuga, n'eyogera nti Bw'otyo N'ekonga olutalo nga lukyali wala, Okubwatuka kw'abaami n'okuleekaana. 18JOB039.026 Doth the hawk fly by thy wisdom, and stretch her wings toward the south? %%% Magga atumbiira na magezi go, N'abamba abiwaawaatiro bye eri obukiika obwa ddyo? 18JOB039.027 Doth the eagle mount up at thy command, and make her nest on high? %%% Empungu erinnya na kiragiro kyo, N'ekola ekisu kyayo waggulu? 18JOB039.028 She dwelleth and abideth on the rock, upon the crag of the rock, and the strong place. %%% Ebeera ku jjinja, n'ennyumba yaayo eri okwo, Ku linnyo ly'ejjinja n'ekifo eky'amaanyi. 18JOB039.029 From thence she seeketh the prey, and her eyes behold afar off. %%% Erengera omuyiggo ng'eyima okwo; Amaaso gaayo gagulaba nga guli wala. 18JOB039.030 Her young ones also suck up blood: and where the slain are, there is she. %%% Era n'abaana baayo banuuna omusaayi: Era awaba emirambo, gy'ebeera eyo. 18JOB040.001 Moreover the LORD answered Job, and said, %%% Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti 18JOB040.002 Shall he that contendeth with the Almighty instruct him? he that reproveth God, let him answer it. %%% Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda akiwoze. 18JOB040.003 Then Job answered the LORD, and said, %%% Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti 18JOB040.004 Behold, I am vile; what shall I answer thee? I will lay mine hand upon my mouth. %%% Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange. 18JOB040.005 Once have I spoken; but I will not answer: yea, twice; but I will proceed no further. %%% Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu; Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate. 18JOB040.006 Then answered the LORD unto Job out of the whirlwind, and said, %%% Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti 18JOB040.007 Gird up thy loins now like a man: I will demand of thee, and declare thou unto me. %%% Weesibe nno ekimyu ng'omusajja: Naakubuuza, naawe onziremu. 18JOB040.008 Wilt thou also disannul my judgment? wilt thou condemn me, that thou mayest be righteous? %%% N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu? 18JOB040.009 Hast thou an arm like God? or canst thou thunder with a voice like him? %%% Oba olina omukono nga Katonda? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye? 18JOB040.010 Deck thyself now with majesty and excellency; and array thyself with glory and beauty. %%% Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa; Yambala ekitiibwa n'obukulu. 18JOB040.011 Cast abroad the rage of thy wrath: and behold every one that is proud, and abase him. %%% Fuka obusungu bwo okusukkiridde: Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze. 18JOB040.012 Look on every one that is proud, and bring him low; and tread down the wicked in their place. %%% Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira. 18JOB040.013 Hide them in the dust together; and bind their faces in secret. %%% Bakise wamu mu nfuufu; Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa. 18JOB040.014 Then will I also confess unto thee that thine own right hand can save thee. %%% Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola. 18JOB040.015 Behold now behemoth, which I made with thee; he eateth grass as an ox. %%% Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente. 18JOB040.016 Lo now, his strength is in his loins, and his force is in the navel of his belly. %%% Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo. 18JOB040.017 He moveth his tail like a cedar: the sinews of his stones are wrapped together. %%% Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu. 18JOB040.018 His bones are as strong pieces of brass; his bones are like bars of iron. %%% Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba. 18JOB040.019 He is the chief of the ways of God: he that made him can make his sword to approach unto him. %%% Ye ekulira amakubo ga Katonda: Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye. 18JOB040.020 Surely the mountains bring him forth food, where all the beasts of the field play. %%% Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya; Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira. 18JOB040.021 He lieth under the shady trees, in the covert of the reed, and fens. %%% Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi. 18JOB040.022 The shady trees cover him with their shadow; the willows of the brook compass him about. %%% Ebisiikirize by'emiti bigibikkako; Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola. 18JOB040.023 Behold, he drinketh up a river, and hasteth not: he trusteth that he can draw up Jordan into his mouth. %%% Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana: Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo. 18JOB040.024 He taketh it with his eyes: his nose pierceth through snares. %%% Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula, Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika? 18JOB041.001 Canst thou draw out leviathan with an hook? or his tongue with a cord which thou lettest down? %%% Oyinza okuggyangamu egoonya n'eddobo? Oba okunyigirizanga olulimi lwayo n'omugwa? 18JOB041.002 Canst thou put an hook into his nose? or bore his jaw through with a thorn? %%% Oyinza okuyingizanga omugwa mu nnyindo zaayo? Oba okuwummulanga oluba lwayo n'eddobo? 18JOB041.003 Will he make many supplications unto thee? will he speak soft words unto thee? %%% Eneekwegayiriranga ebigambo bingi? Oba eneekugambanga ebigambo ebigonvu? 18JOB041.004 Will he make a covenant with thee? wilt thou take him for a servant for ever? %%% Eneeragaananga endagaano naawe, Ogitwalenga okuba omuddu emirembe gyonna? 18JOB041.005 Wilt thou play with him as with a bird? or wilt thou bind him for thy maidens? %%% Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ennyonyi? Oba onoogisibiranga abawala bo? 18JOB041.006 Shall the companions make a banquet of him? shall they part him among the merchants? %%% Ebibiina eby'abavubi binaagifuulanga obuguzi? Banaagigabaniranga mu basuubuzi? 18JOB041.007 Canst thou fill his skin with barbed irons? or his head with fish spears? %%% Oyinza okujjuzanga eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo, Oba omutwe gwayo emiwunda egiswaga ebyennyanja? 18JOB041.008 Lay thine hand upon him, remember the battle, do no more. %%% Giteekeko omukono gwo; Jjukira olutalo olemenga okweyongera okukola bw'otyo. 18JOB041.009 Behold, the hope of him is in vain: shall not one be cast down even at the sight of him? %%% Laba, essuubi lyayo lya bwereere: Omuntu taakeŋŋentererwenga bw'agiraba obulabi? 18JOB041.010 None is so fierce that dare stir him up: who then is able to stand before me? %%% Tewali mukambwe bw'atyo n'okwaŋŋanga n'ayaŋŋanga okugisaggula: Kale aluwa oyo ayinza okuyimirira mu maaso gange? 18JOB041.011 Who hath prevented me, that I should repay him? whatsoever is under the whole heaven is mine. %%% Ani eyasooka okumpa, nze mmusasule? Byonna ebiri wansi w'eggulu lyonna byange. 18JOB041.012 I will not conceal his parts, nor his power, nor his comely proportion. %%% Siisirike olw'amagulu gaayo, Newakubadde amaanyi gaayo amangi, newakubadde okugattibwa kwayo okulungi. 18JOB041.013 Who can discover the face of his garment? or who can come to him with his double bridle? %%% Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky'okungulu? Ani anaatuuka munda w'enkoba zaayo ebbiri? 18JOB041.014 Who can open the doors of his face? his teeth are terrible round about. %%% Ani ayinza okuggulawo enzigi ez'amaaso gaayo? Entiisa yeetoolodde amannyo gaayo. 18JOB041.015 His scales are his pride, shut up together as with a close seal. %%% Amagamba gaayo ag'amaanyi ge malala gaayo, Nga gasibaganye ng'akabonero bwe kanyweza. 18JOB041.016 One is so near to another, that no air can come between them. %%% Erimu lyegatta n'ery'okubiri bwe lityo N'okuyinza empewo ne zitayinza kuyita wakati waago. 18JOB041.017 They are joined one to another, they stick together, that they cannot be sundered. %%% Geegasse gokka na gokka; Gakwatagana ne gatayinzika kwawulibwa. 18JOB041.018 By his neesings a light doth shine, and his eyes are like the eyelids of the morning. %%% Okwasimula kwayo kumyansaamu omusana, N'amaaso gaayo gafaanana ebikowe eby'enkya. 18JOB041.019 Out of his mouth go burning lamps, and sparks of fire leap out. %%% Mu kamwa kaayo muva emimuli egyaka, N'ensasi ez'omuliro zibuuka okuvaamu. 18JOB041.020 Out of his nostrils goeth smoke, as out of a seething pot or caldron. %%% Mu nnyindo zaayo muva omukka, Ng'ogw'entamu etokota n'ogw'ebitoogo ebiggya. 18JOB041.021 His breath kindleth coals, and a flame goeth out of his mouth. %%% Omukka gwayo gwasa amanda, Era omuliro guva mu kamwa kaayo. 18JOB041.022 In his neck remaineth strength, and sorrow is turned into joy before him. %%% Mu nsingo yaayo mubeera amaanyi, N'entiisa ezinira mu maaso gaayo. 18JOB041.023 The flakes of his flesh are joined together: they are firm in themselves; they cannot be moved. %%% Emiwula gy'ennyama yaayo gyegasse: Ginywerera ku yo: tegiyinza kusagaasagana. 18JOB041.024 His heart is as firm as a stone; yea, as hard as a piece of the nether millstone. %%% Omutima gwayo guguma ng'ejjinja; Weewaawo, guguma ng'olubengo. 18JOB041.025 When he raiseth up himself, the mighty are afraid: by reason of breakings they purify themselves. %%% Bw'eyimuka ab'amaanyi batya: Olw'okwekanga nga baliko eddalu. 18JOB041.026 The sword of him that layeth at him cannot hold: the spear, the dart, nor the habergeon. %%% Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola; Newakubadde effumu newakubadde omuwunda newakubadde akasaale akasongovu. 18JOB041.027 He esteemeth iron as straw, and brass as rotten wood. %%% Ebyuma ebiyita bisasiro, N'ebikomo miti mivundu. 18JOB041.028 The arrow cannot make him flee: slingstones are turned with him into stubble. %%% Akasaale tekayinza kugiddusa: Amayinja agavuumuulibwa gafuuka ebiti eri yo. 18JOB041.029 Darts are counted as stubble: he laugheth at the shaking of a spear. %%% Endoddo ziyitibwa ng'ebiti: Esekerera okuwulukuka kw'akasaale. 18JOB041.030 Sharp stones are under him: he spreadeth sharp pointed things upon the mire. %%% Ebitundu byayo ebya wansi biriŋŋanga engyo eziriko obwogi: Eteeka ng'eggaali ewuula ku bitosi. 18JOB041.031 He maketh the deep to boil like a pot: he maketh the sea like a pot of ointment. %%% Etokosa ennyanja ng'entamu: Efaananya ennyanja amafuta. 18JOB041.032 He maketh a path to shine after him; one would think the deep to be hoary. %%% Emasamasisa ekkubo ennyuma waayo; Obuziba wandibulowoozezza okuba n'envi. 18JOB041.033 Upon earth there is not his like, who is made without fear. %%% Tewali ekigyenkana ku nsi, Ekolebwa obutabaamu kutya. 18JOB041.034 He beholdeth all high things: he is a king over all the children of pride. %%% Etunuulira buli kintu ekigulumivu: Ye kabaka w'abaana bonna ab'amalala. 18JOB042.001 Then Job answered the LORD, and said, %%% Awo Yobu n'addamu Mukama n'ayogera nti 18JOB042.002 I know that thou canst do every thing, and that no thought can be withholden from thee. %%% Mmanyi nga ggwe oyinza byonna, Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika. 18JOB042.003 Who is he that hideth counsel without knowledge? therefore have I uttered that I understood not; things too wonderful for me, which I knew not. %%% Ani ono akisa okuteesa awatali kumanya? Kyennavudde njatula ebyo bye ssaategedde, Ebigambo eby'ekitalo ebyannemye bye ssaamanye. 18JOB042.004 Hear, I beseech thee, and I will speak: I will demand of thee, and declare thou unto me. %%% Nkwegayiridde, wulira, nange ka njogere; Naakubuuza, naawe onziremu. 18JOB042.005 I have heard of thee by the hearing of the ear: but now mine eye seeth thee. %%% Nali nkuwuliddeko n'okuwulira kw'okutu; Naye kaakano eriiso lyange likulaba, 18JOB042.006 Wherefore I abhor myself, and repent in dust and ashes. %%% Kyenvudde neetamwa ne nneenenya Mu nfuufu n'evvu. 18JOB042.007 And it was so, that after the LORD had spoken these words unto Job, the LORD said to Eliphaz the Temanite, My wrath is kindled against thee, and against thy two friends: for ye have not spoken of me the thing that is right, as my servant Job hath. %%% Awo olwatuuka Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, Mukama n'agamba Erifaazi Omutemani nti Obusungu bwange bukubuubuukidde ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko ekigambo ekirina ensonga, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde. 18JOB042.008 Therefore take unto you now seven bullocks and seven rams, and go to my servant Job, and offer up for yourselves a burnt offering; and my servant Job shall pray for you: for him will I accept: lest I deal with you after your folly, in that ye have not spoken of me the thing which is right, like my servant Job. %%% Kale nno mwetwalire ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa; era omuddu wange Yobu anaabasabira; kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe buli; kubanga temunjogeddeko kigambo ekirina ensonga ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde: 18JOB042.009 So Eliphaz the Temanite and Bildad the Shuhite and Zophar the Naamathite went, and did according as the LORD commanded them: the LORD also accepted Job. %%% Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuki ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bw'abalagidde: kale Mukama n'akkiriza Yobu. 18JOB042.010 And the LORD turned the captivity of Job, when he prayed for his friends: also the LORD gave Job twice as much as he had before. %%% Awo Mukama n'akyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Mukama n'awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye. 18JOB042.011 Then came there unto him all his brethren, and all his sisters, and all they that had been of his acquaintance before, and did eat bread with him in his house: and they bemoaned him, and comforted him over all the evil that the LORD had brought upon him: every man also gave him a piece of money, and every one an earring of gold. %%% Awo baganda be bonna ne bajja gy'ali ne bannyina bonna n'abo bonna be yamanyagananga nabo olubereberye, ne baliira emmere wamu naye mu nnyumba ye: ne bamukaabira ne bamukubagiza olw'obubi bwonna Mukama bwe yamuleetako: era buli muntu n'amuwa ekitundu ekya ffeeza, na buli muntu empeta eya zaabu. 18JOB042.012 So the LORD blessed the latter end of Job more than his beginning: for he had fourteen thousand sheep, and six thousand camels, and a thousand yoke of oxen, and a thousand she asses. %%% Awo Mukama n'awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye: n'aba n'endiga kakumi mu enkumi nnya, n'eŋŋamira kakaaga, n'emigogo gy'ente lukumi n'endogoyi enkazi lukumi. 18JOB042.013 He had also seven sons and three daughters. %%% Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu. 18JOB042.014 And he called the name of the first, Jemima; and the name of the second, Kezia; and the name of the third, Kerenhappuch. %%% N'ow'olubereberye n’amutuuma erinnya Yemima; n'ow'okubiri erinnya lye Keeziya; n'ow'okusatu erinnya lye Kerenukappuki. 18JOB042.015 And in all the land were no women found so fair as the daughters of Job: and their father gave them inheritance among their brethren. %%% Awo mu nsi yonna ne watalabika abakazi abalungi okwenkana abawala ba Yobu: kitaabwe n'abawa obusika mu baganda baabwe. 18JOB042.016 After this lived Job an hundred and forty years, and saw his sons, and his sons' sons, even four generations. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba batabani be n'abaana ba batabani be, bannakasatwe. 18JOB042.017 So Job died, being old and full of days. %%% Awo Yobu n'afa nga mukadde ng'awezezza ennaku nnyingi. 19PSA001.001 Blessed is the man that walketh not in the counsel of the ungodly, nor standeth in the way of sinners, nor sitteth in the seat of the scornful. %%% Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma. 19PSA001.002 But his delight is in the law of the LORD; and in his law doth he meditate day and night. %%% Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro. 19PSA001.003 And he shall be like a tree planted by the rivers of water, that bringeth forth his fruit in his season; his leaf also shall not wither; and whatsoever he doeth shall prosper. %%% Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, Era amalagala gaagwo tegawotoka; Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa. 19PSA001.004 The ungodly are not so: but are like the chaff which the wind driveth away. %%% Ababi si bwe batyo; Naye bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula. 19PSA001.005 Therefore the ungodly shall not stand in the judgment, nor sinners in the congregation of the righteous. %%% Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango, Newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu. 19PSA001.006 For the LORD knoweth the way of the righteous: but the way of the ungodly shall perish. %%% Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu: Naye ekkubo ly'ababi liribula. 19PSA002.001 Why do the heathen rage, and the people imagine a vain thing? %%% Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga, N'abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu? 19PSA002.002 The kings of the earth set themselves, and the rulers take counsel together, against the LORD, and against his anointed, saying, %%% Bakabaka ab'ensi beeteeseteese, N'abafuga bateesezza ebigambo wamu, Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti 19PSA002.003 Let us break their bands asunder, and cast away their cords from us. %%% Ka tumenyemenye enjegere zaabwe, Tusuule wala emigwa gyabwe. 19PSA002.004 He that sitteth in the heavens shall laugh: the LORD shall have them in derision. %%% Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira. 19PSA002.005 Then shall he speak unto them in his wrath, and vex them in his sore displeasure. %%% Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe, Alibateganya mu kiruyi kye ekingi: 19PSA002.006 Yet have I set my king upon my holy hill of Zion. %%% Naye naateeka kabaka wange Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni. 19PSA002.007 I will declare the decree: the LORD hath said unto me, Thou art my Son; this day have I begotten thee. %%% Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde. 19PSA002.008 Ask of me, and I shall give thee the heathen for thine inheritance, and the uttermost parts of the earth for thy possession. %%% Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go. 19PSA002.009 Thou shalt break them with a rod of iron; thou shalt dash them in pieces like a potter's vessel. %%% Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma; Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi. 19PSA002.010 Be wise now therefore, O ye kings: be instructed, ye judges of the earth. %%% Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka: Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi. 19PSA002.011 Serve the LORD with fear, and rejoice with trembling. %%% Muweereze Mukama n'okutya, Era musanyuke n'okukankana. 19PSA002.012 Kiss the Son, lest he be angry, and ye perish from the way, when his wrath is kindled but a little. Blessed are all they that put their trust in him. %%% Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye. 19PSA003.001 Lord, how are they increased that trouble me! many are they that rise up against me. %%% Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abagolokoka okunnumba bangi. 19PSA003.002 Many there be which say of my soul, There is no help for him in God. Selah. %%% Bangi aboogera ku mmeeme yange Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera) 19PSA003.003 But thou, O LORD, art a shield for me; my glory, and the lifter up of mine head. %%% Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma; Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange. 19PSA003.004 I cried unto the LORD with my voice, and he heard me out of his holy hill. Selah. %%% N'eddoboozi lyange, nkoowoola Mukama, Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera) 19PSA003.005 I laid me down and slept; I awaked; for the LORD sustained me. %%% Naagalamira ne nneebaka; Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma. 19PSA003.006 I will not be afraid of ten thousands of people, that have set themselves against me round about. %%% Siritya bukumi bwa bantu, Abaneetooloola okunnumba. 19PSA003.007 Arise, O LORD; save me, O my God: for thou hast smitten all mine enemies upon the cheek bone; thou hast broken the teeth of the ungodly. %%% Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange: Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama, Wamenya amannyo g'ababi. 19PSA003.008 Salvation belongeth unto the LORD: thy blessing is upon thy people. Selah. %%% Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera) 19PSA004.001 Hear me when I call, O God of my righteousness: thou hast enlarged me when I was in distress; have mercy upon me, and hear my prayer. %%% Onziremu bwe nkukaabira, ai Katonda ow'obutuukirivu bwange; Wansumulula bwe nnali mu nnaku; Onsaasire, ompulire okusaba kwange. 19PSA004.002 O ye sons of men, how long will ye turn my glory into shame? how long will ye love vanity, and seek after leasing? Selah. %%% Mmwe abaana b'abantu, mulituusa wa okukyuusa ekitiibwa kyange mu nsonyi? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? (Seera) 19PSA004.003 But know that the LORD hath set apart him that is godly for himself: the LORD will hear when I call unto him. %%% Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda: Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga. 19PSA004.004 Stand in awe, and sin not: commune with your own heart upon your bed, and be still. Selah. %%% Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire. (Seera) 19PSA004.005 Offer the sacrifices of righteousness, and put your trust in the LORD. %%% Muweeyo sadaaka ez'obutuukirivu, Era mwesige Mukama. 19PSA004.006 There be many that say, Who will shew us any good? LORD, lift thou up the light of thy countenance upon us. %%% Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi? Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw'amaaso go ku ffe. 19PSA004.007 Thou hast put gladness in my heart, more than in the time that their corn and their wine increased. %%% Otadde essanyu mu mutima gwange, okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe. 19PSA004.008 I will both lay me down in peace, and sleep: for thou, LORD, only makest me dwell in safety. %%% Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe. 19PSA005.001 Give ear to my words, O LORD, consider my meditation. %%% Wulira ebigambo byange, ai Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange. 19PSA005.002 Hearken unto the voice of my cry, my King, and my God: for unto thee will I pray. %%% Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: Kubanga nkusaba ggwe. 19PSA005.003 My voice shalt thou hear in the morning, O LORD; in the morning will I direct my prayer unto thee, and will look up. %%% Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula. 19PSA005.004 For thou art not a God that hath pleasure in wickedness: neither shall evil dwell with thee. %%% Kubanga toli Katonda asanyusibwa obubi: Ebitasaana tebiituulenga gy'oli. 19PSA005.005 The foolish shall not stand in thy sight: thou hatest all workers of iniquity. %%% Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go: Okyawa bonna abakola, ebitali bituukirivu. 19PSA005.006 Thou shalt destroy them that speak leasing: the LORD will abhor the bloody and deceitful man. %%% Olizikiriza aboogera eby'obulimba: Mukama akyawa omuntu atta n'alimbalimba. 19PSA005.007 But as for me, I will come into thy house in the multitude of thy mercy: and in thy fear will I worship toward thy holy temple. %%% Naye ku lwange mu bungi bw'ekisa kyo naayingiranga mu nnyumba yo: Mu kukutya naasinzanga nga njolekera yeekaalu yo entukuvu. 19PSA005.008 Lead me, O LORD, in thy righteousness because of mine enemies; make thy way straight before my face. %%% Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange; Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange. 19PSA005.009 For there is no faithfulness in their mouth; their inward part is very wickedness; their throat is an open sepulchre; they flatter with their tongue. %%% Kubanga tewali bwesigwa mu mimwa gyabwe: Omwoyo gwabwe bubi busa: Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Beegonza n'olulimi lwabwe. 19PSA005.010 Destroy thou them, O God; let them fall by their own counsels; cast them out in the multitude of their transgressions; for they have rebelled against thee. %%% Obasseeko omusango, ai Katonda; Bagwe olw'okuteesa kwabwe bo: Obasindike mu kwonoona kwabwe okungi; Kubanga bakujeemedde ggwe. 19PSA005.011 But let all those that put their trust in thee rejoice: let them ever shout for joy, because thou defendest them: let them also that love thy name be joyful in thee. %%% Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe. 19PSA005.012 For thou, LORD, wilt bless the righteous; with favour wilt thou compass him as with a shield. %%% Kubanga oliwa omutuukirivu omukisa; Ai Mukama, olimwetoolooza ekisa ng'engabo. 19PSA006.001 O LORD, rebuke me not in thine anger, neither chasten me in thy hot displeasure. %%% Ai Mukama; tonnenya mu busungu bwo, So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka. 19PSA006.002 Have mercy upon me, O LORD; for I am weak: O LORD, heal me; for my bones are vexed. %%% Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokedde ddala: Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiridde. 19PSA006.003 My soul is also sore vexed: but thou, O LORD, how long? %%% Era n'emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo: Naawe, ai Mukama, olituusa wa? 19PSA006.004 Return, O LORD, deliver my soul: oh save me for thy mercies' sake. %%% Komawo, ai Mukama, ondokole emmeeme yange: Omponye olw'ekisa kyo: 19PSA006.005 For in death there is no remembrance of thee: in the grave who shall give thee thanks? %%% Kubanga tewali akujuukirira mu kufa: Ani alikwebaliza mu magombe? 19PSA006.006 I am weary with my groaning; all the night make I my bed to swim; I water my couch with my tears. %%% Okusinda kwange kunkooyezza; Buli kiro nkulukusa ekiriri kyange; Ekitanda kyange nkitobya n'amaziga. 19PSA006.007 Mine eye is consumed because of grief; it waxeth old because of all mine enemies. %%% Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala; Likaddiye olw'abalabe bange bonna. 19PSA006.008 Depart from me, all ye workers of iniquity; for the LORD hath heard the voice of my weeping. %%% Muveewo we ndi, mwenna abakola ebitali bituukirivu; Kubanga Mukama awulidde eddoboozi ly'okukaaba kwange. 19PSA006.009 The LORD hath heard my supplication; the LORD will receive my prayer. %%% Mukama awulidde okwegayirira kwange; Mukama anakkirizanga okusaba kwange. 19PSA006.010 Let all mine enemies be ashamed and sore vexed: let them return and be ashamed suddenly. %%% Abalabe bange bonna baliswazibwa, balyeraliikirira nnyo: Balidda ennyuma, baliswazibwa mangu. 19PSA007.001 O LORD my God, in thee do I put my trust: save me from all them that persecute me, and deliver me: %%% Ai Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: Ondokole eri abo bonna abangoba, omponye: 19PSA007.002 Lest he tear my soul like a lion, rending it in pieces, while there is none to deliver. %%% Aleme okutaagula emmeeme yange ng'empologoma, Okugitaagulataagula, nga tewali anamponya. 19PSA007.003 O LORD my God, if I have done this; if there be iniquity in my hands; %%% Ai Mukama, Katonda wange, oba nga nakola bwe ntyo; Oba nga obutali butuukirivu buli mu mikono gyange; 19PSA007.004 If I have rewarded evil unto him that was at peace with me; (yea, I have delivered him that without cause is mine enemy:) %%% Oba nga namuwalana obubi eyali n'emirembe gye ndi; (Nedda, naye nawonya eyali omulabe wange obwereere:) 19PSA007.005 Let the enemy persecute my soul, and take it; yea, let him tread down my life upon the earth, and lay mine honour in the dust. Selah. %%% Ankyawa ayigganye emmeeme yange, agituukeko: Anninnyirire obulamu bwange wansi mu ttaka, Asse ekitiibwa kyange mu nfuufu. (Seera) 19PSA007.006 Arise, O LORD, in thine anger, lift up thyself because of the rage of mine enemies: and awake for me to the judgment that thou hast commanded. %%% Golokoka, ai Mukama, mu busungu bwo, Weesimbe ku bukambwe obw'abalabe bange: Era onzuukukire; walagira omusango. 19PSA007.007 So shall the congregation of the people compass thee about: for their sakes therefore return thou on high. %%% Era ekkuŋŋaaniro ery'amawanga likwetooloole: Okomewo waggulu okubafuga 19PSA007.008 The LORD shall judge the people: judge me, O LORD, according to my righteousness, and according to mine integrity that is in me. %%% Mukama aweereza omusango amawanga: Osale omusango gwange, ai Mukama, olw'obutuukiriw bwange n'amazima gange agali mu nze. 19PSA007.009 Oh let the wickedness of the wicked come to an end; but establish the just: for the righteous God trieth the hearts and reins. %%% Singa obubi obw'ababi buweddewo, naye abatuukirivu ggwe obanyweze: Kubanga Katonda ow'obutuukirivu ageza emitima n'emmeeme. 19PSA007.010 My defence is of God, which saveth the upright in heart. %%% Engabo yange eri ne Katonda, Alokola abalina omutima ogw'amazima. 19PSA007.011 God judgeth the righteous, and God is angry with the wicked every day. %%% Katonda ye musazi w'emisango omutuukirivu, Era ye Katonda alina obusungu buli lunaku. 19PSA007.012 If he turn not, he will whet his sword; he hath bent his bow, and made it ready. %%% Omuntu bw'atakyuka, aliwagala ekitala kye; Aleeze omutego gwe, aguteeseteese. 19PSA007.013 He hath also prepared for him the instruments of death; he ordaineth his arrows against the persecutors. %%% Era amuteekeddeteekedde ebintu ebitta; Emisaale gye agiteekako omuliro. 19PSA007.014 Behold, he travaileth with iniquity, and hath conceived mischief, and brought forth falsehood. %%% Laba, alina olubuto olw'obubi; Weewaawo, eggwako lye lye ttima, era azadde obulimba. 19PSA007.015 He made a pit, and digged it, and is fallen into the ditch which he made. %%% Yakola obunnya, yabusima, Era agudde mu lusalosalo lwe yakola. 19PSA007.016 His mischief shall return upon his own head, and his violent dealing shall come down upon his own pate. %%% Ettima lye liriddira ku mutwe gwe ye, N'ekyejo kye kirituuka ku bwezinge bwe. 19PSA007.017 I will praise the LORD according to his righteousness: and will sing praise to the name of the LORD most high. %%% Neebazanga Mukama olw'obutuukirivu bwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo. 19PSA008.001 O LORD, our Lord, how excellent is thy name in all the earth! who hast set thy glory above the heavens. %%% Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu. 19PSA008.002 Out of the mouth of babes and sucklings hast thou ordained strength because of thine enemies, that thou mightest still the enemy and the avenger. %%% Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga. 19PSA008.003 When I consider thy heavens, the work of thy fingers, the moon and the stars, which thou hast ordained; %%% Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw'engalo zo, Omwezi n'emmunyeenye, bye walagira; 19PSA008.004 What is man, that thou art mindful of him? and the son of man, that thou visitest him? %%% Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira? 19PSA008.005 For thou hast made him a little lower than the angels, and hast crowned him with glory and honour. %%% Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo. 19PSA008.006 Thou madest him to have dominion over the works of thy hands; thou hast put all things under his feet: %%% Wamufuza emirimu egy'emikono Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye: 19PSA008.007 All sheep and oxen, yea, and the beasts of the field; %%% Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko; 19PSA008.008 The fowl of the air, and the fish of the sea, and whatsoever passeth through the paths of the seas. %%% Ennyonyi eza waggulu, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, Buli kintu ekiyita mu makubo ag'ennyanja. 19PSA008.009 O LORD our Lord, how excellent is thy name in all the earth! %%% Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! 19PSA009.001 I will praise thee, O LORD, with my whole heart; I will shew forth all thy marvellous works. %%% Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna; Naayolesanga ebikolwa byo eby'ekitalo byonna. 19PSA009.002 I will be glad and rejoice in thee: I will sing praise to thy name, O thou most High. %%% Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo. 19PSA009.003 When mine enemies are turned back, they shall fall and perish at thy presence. %%% Abalabe bange bwe badda ennyuma, Beesittala ne bazikirira mu maaso go. 19PSA009.004 For thou hast maintained my right and my cause; thou satest in the throne judging right. %%% Kubanga ggwe wayamba ensonga yange n'ebigambo byange; Watuula ku ntebe, ng'osala omusango ogw'ensonga. 19PSA009.005 Thou hast rebuked the heathen, thou hast destroyed the wicked, thou hast put out their name for ever and ever. %%% Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe. 19PSA009.006 O thou enemy, destructions are come to a perpetual end: and thou hast destroyed cities; their memorial is perished with them. %%% Abalabe baweddewo, baviibwamu emirembe egitaggwaawo; N'ebibuga bye wamenya. Era n'ekijjukizo kyabyo kizikiridde. 19PSA009.007 But the LORD shall endure for ever: he hath prepared his throne for judgment. %%% Naye Mukama abeererawo emirembe egitaggwaawo: Ateeseteese entebe ye okusala omusango. 19PSA009.008 And he shall judge the world in righteousness, he shall minister judgment to the people in uprightness. %%% Naye alisala omusango ogw'ensi zonna mu butuukirivu, Aliwa omusango amawanga mu mazima. 19PSA009.009 The LORD also will be a refuge for the oppressed, a refuge in times of trouble. %%% Era Mukama anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, Ekigo ekiwanvu mu biro eby'ennaku; 19PSA009.010 And they that know thy name will put their trust in thee: for thou, LORD, hast not forsaken them that seek thee. %%% N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya. 19PSA009.011 Sing praises to the LORD, which dwelleth in Zion: declare among the people his doings. %%% Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni: Mubuulire ebikolwa bye mu bantu. 19PSA009.012 When he maketh inquisition for blood, he remembereth them: he forgetteth not the cry of the humble. %%% Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira: Teyeerabira kukaaba kw'abaavu. 19PSA009.013 Have mercy upon me, O LORD; consider my trouble which I suffer of them that hate me, thou that liftest me up from the gates of death: %%% Onsaasire, ai Mukama; Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, Ggwe annyimusa ku miryango egy'olumbe; 19PSA009.014 That I may shew forth all thy praise in the gates of the daughter of Zion: I will rejoice in thy salvation. %%% Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna: Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Naasanyukiranga obulokozi bwo. 19PSA009.015 The heathen are sunk down in the pit that they made: in the net which they hid is their own foot taken. %%% Amawanga gagudde mu bunnya bwe baasima: Mu kyambika kye baatega ekigere kyabwe mwelukwatiddwa: 19PSA009.016 The LORD is known by the judgment which he executeth: the wicked is snared in the work of his own hands. Higgaion. Selah. %%% Mukama yeetegeezezza, atuukirizza omusango: Omubi akwatibwa mu mirimu gy'emikono gye. (Kiggayoni. Seera 19PSA009.017 The wicked shall be turned into hell, and all the nations that forget God. %%% Ababi balidda mu magombe. Ge mawanga gonna ageerabira Katonda. 19PSA009.018 For the needy shall not alway be forgotten: the expectation of the poor shall not perish for ever. %%% Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, So essuubi ery'abawombeefu teriibulenga emirembe gyonna. 19PSA009.019 Arise, O LORD; let not man prevail: let the heathen be judged in thy sight. %%% Golokoka, ai Mukama; abantu balemenga okuwangula: Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go. 19PSA009.020 Put them in fear, O LORD: that the nations may know themselves to be but men. Selah. %%% Obatiise, ai Mukama: Amawanga geetekeere nga bantu buntu. (Seera) 19PSA010.001 Why standest thou afar off, O LORD? why hidest thou thyself in times of trouble? %%% Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku? 19PSA010.002 The wicked in his pride doth persecute the poor: let them be taken in the devices that they have imagined. %%% Mu malala ag'omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo: Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa. 19PSA010.003 For the wicked boasteth of his heart's desire, and blesseth the covetous, whom the LORD abhorreth. %%% Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'omukodo yeegaana, era anyooma Mukama. 19PSA010.004 The wicked, through the pride of his countenance, will not seek after God: God is not in all his thoughts. %%% Omubi mu malala ag'amaaso ge ayogera nti Talivunaana. Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda. 19PSA010.005 His ways are always grievous; thy judgments are far above out of his sight: as for all his enemies, he puffeth at them. %%% Amakubo ge makakanyavu ennaku zonna; Emisango gyo giri waggulu nnyo gy'atayinza kugirabira: Abalabe be bonna abasooza. 19PSA010.006 He hath said in his heart, I shall not be moved: for I shall never be in adversity. %%% Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana: Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku. 19PSA010.007 His mouth is full of cursing and deceit and fraud: under his tongue is mischief and vanity. %%% Akamwa ke kajjudde okukolima n'okulimba n'okujooga: Wansi w'olulimi lwe waliwo ettima n'obutali butuukirivu: 19PSA010.008 He sitteth in the lurking places of the villages: in the secret places doth he murder the innocent: his eyes are privily set against the poor. %%% Atuula mu mateegero ag'ebyalo: Mu bwekweko atta abatalina misango: Amaaso ge agatunuuliza ku munafu mu kyama. 19PSA010.009 He lieth in wait secretly as a lion in his den: he lieth in wait to catch the poor: he doth catch the poor, when he draweth him into his net. %%% Yeekweka mu tteegero ng'empologoma mu mpuku yaayo: Yeekisa okukwata omwavu: Akwatira ddala omwavu, ng'amuwalulira mu kyambika kye. 19PSA010.010 He croucheth, and humbleth himself, that the poor may fall by his strong ones. %%% Akutama, akootakoota, Abasajja be ab'amaanyi ne basuula abanafu. 19PSA010.011 He hath said in his heart, God hath forgotten: he hideth his face; he will never see it. %%% Ayogera mu mutima gwe nti Katonda yeerabidde: Akweka amaaso ge; tagenda kukiraba. 19PSA010.012 Arise, O LORD; O God, lift up thine hand: forget not the humble. %%% Golokoka, ai Mukama; ai Katonda oyimuse omukono gwo: Teweerabira mwavu. 19PSA010.013 Wherefore doth the wicked contemn God? he hath said in his heart, Thou wilt not require it. %%% Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana? 19PSA010.014 Thou hast seen it; for thou beholdest mischief and spite, to requite it with thy hand: the poor committeth himself unto thee; thou art the helper of the fatherless. %%% Walaba; kubanga otunuulira ettima n'obukyayi, okussaako omukono gwo: Omunafu yeewaayo gy'oli; Wabanga omubeezi w'abo abataliiko kitaabwe. 19PSA010.015 Break thou the arm of the wicked and the evil man: seek out his wickedness till thou find none. %%% Menya omukono gw'omubi; Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu. 19PSA010.016 The LORD is King for ever and ever: the heathen are perished out of his land. %%% Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe: Amawanga gazikiridde mu nsi ye. 19PSA010.017 LORD, thou hast heard the desire of the humble: thou wilt prepare their heart, thou wilt cause thine ear to hear: %%% Mukama, wawulira abawombeefu kye bayagala: Onooteekateekanga omutima gwabwe, onoowulizanga okutu kwo: 19PSA010.018 To judge the fatherless and the oppressed, that the man of the earth may no more oppress. %%% Okusalira omusango abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa. Omuntu, ye w'omu nsi, aleke okubeera n'entiisa. 19PSA011.001 In the LORD put I my trust: how say ye to my soul, Flee as a bird to your mountain? %%% Mukama gwe nneesiga: Mugamba mutya emmeeme yange nti Ddukira ku lusozi lwammwe ng'ennyonyi? 19PSA011.002 For, lo, the wicked bend their bow, they make ready their arrow upon the string, that they may privily shoot at the upright in heart. %%% Kubanga, laba, ababi batega omutego, Bateekateeka akasaale ku lugoye, Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw'amazima. 19PSA011.003 If the foundations be destroyed, what can the righteous do? %%% Oba nga emisingi girizikirizibwa, Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola? 19PSA011.004 The LORD is in his holy temple, the LORD's throne is in heaven: his eyes behold, his eyelids try, the children of men. %%% Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu, Mukama, entebe ye eri mu ggulu; Amaaso ge galaba abaana b'abantu, ebikowe bye bibakema. 19PSA011.005 The LORD trieth the righteous: but the wicked and him that loveth violence his soul hateth. %%% Mukama akema abatuukirivu: Naye omubi n'oyo ayagala eby'amaanyi emmeeme ye ebakyawa. 19PSA011.006 Upon the wicked he shall rain snares, fire and brimstone, and an horrible tempest: this shall be the portion of their cup. %%% Ku babi anaatonnyesanga ebyambika; Omuliro n'ekibiriiti n'empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw'ekikompe kyabwe. 19PSA011.007 For the righteous LORD loveth righteousness; his countenance doth behold the upright. %%% Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby'obutuukirivu: Abalina omwoyo ogw'amazima baliraba amaaso ge. 19PSA012.001 Help, LORD; for the godly man ceaseth; for the faithful fail from among the children of men. %%% Yamba, Mukama; kubanga atya Katonda aggwaawo; Kubanga abakkiriza bakendeera mu baana b'abantu. 19PSA012.002 They speak vanity every one with his neighbour: with flattering lips and with a double heart do they speak. %%% Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne: Boogera n'emimwa eginyumiriza n'emitima ebiri: 19PSA012.003 The LORD shall cut off all flattering lips, and the tongue that speaketh proud things: %%% Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza, N'olulimi olwogera ebikulu: 19PSA012.004 Who have said, With our tongue will we prevail; our lips are our own: who is lord over us? %%% Aboogedde nti N'olulimi lwaffe tuliwangula; Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani? 19PSA012.005 For the oppression of the poor, for the sighing of the needy, now will I arise, saith the LORD; I will set him in safety from him that puffeth at him. %%% Olw'okunyagibwa kw'abaavu, olw'okusinda kw'abanafu, Kaakano naagolokoka, Mukama bw'ayogera; Naamuteeka mu mirembe gwe basooza. 19PSA012.006 The words of the LORD are pure words: as silver tried in a furnace of earth, purified seven times. %%% Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu; Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi, Erongoosebwa emirundi omusanvu. 19PSA012.007 Thou shalt keep them, O LORD, thou shalt preserve them from this generation for ever. %%% Onoobakuumanga, ai Mukama, Onoobawonyanga mu mirembe gino ennaku zonna. 19PSA012.008 The wicked walk on every side, when the vilest men are exalted. %%% Ababi batambula ku njuyi zonna, Obugwagwa bwe bugulumizibwanga mu baana b'abantu. 19PSA013.001 How long wilt thou forget me, O LORD? for ever? how long wilt thou hide thy face from me? %%% Olituusa wa, ai Mukama, okunneerabiranga emirembe gyonna? Olituusa wa okunkisanga amaaso go? 19PSA013.002 How long shall I take counsel in my soul, having sorrow in my heart daily? how long shall mine enemy be exalted over me? %%% Ndituusa wa okuteesanga mu mmeeme yange, Nga ndaba ennaku mu mutima gwange obudde okuziba? Alituusa wa omulabe wange okugulumizibwanga ku nze? 19PSA013.003 Consider and hear me, O LORD my God: lighten mine eyes, lest I sleep the sleep of death; %%% Lowooza onziremu, ai Mukama Katonda wange: Yakira amaaso gange, nneme okwebaka okufa; 19PSA013.004 Lest mine enemy say, I have prevailed against him; and those that trouble me rejoice when I am moved. %%% Omulabe wange alemenga okwogera nti Mmuwangudde: Abankyawa balemenga okujaguza nga nsagaasagana. 19PSA013.005 But I have trusted in thy mercy; my heart shall rejoice in thy salvation. %%% Naye nneesize okusaasira kwo; Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo: 19PSA013.006 I will sing unto the LORD, because he hath dealt bountifully with me. %%% Naayimbiranga Mukama, Kubanga ankoledde obulungi obungi. 19PSA014.001 The fool hath said in his heart, There is no God. They are corrupt, they have done abominable works, there is none that doeth good. %%% Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti Siwali Katonda. Bavunze, bakoze ebikolwa eby'obugwagwa; Siwali akola obulungi. 19PSA014.002 The LORD looked down from heaven upon the children of men, to see if there were any that did understand, and seek God. %%% Mukama yatunuulira ng'ayima mu ggulu abaana b'abantu, Okulaba nga waliwo abaategeera, Abaanoonya Katonda. 19PSA014.003 They are all gone aside, they are all together become filthy: there is none that doeth good, no, not one. %%% Bonna bakyamye; boonoonese empitambi wamu; Siwali akola obulungi, newakubadde n'omu. 19PSA014.004 Have all the workers of iniquity no knowledge? who eat up my people as they eat bread, and call not upon the LORD. %%% Bonna abakola obutali butuukirivu tebalina magezi? Abalya abantu bange nga bwe balya emmere, So tebakoowoola Mukama. 19PSA014.005 There were they in great fear: for God is in the generation of the righteous. %%% Eri baalina obuti bungi : Kubanga Katonda ali mu mirembe gy'abatuukirivu. 19PSA014.006 Ye have shamed the counsel of the poor, because the LORD is his refuge. %%% Mukwasa ensonyi okuteesa kw'omwavu, Kubanga Mukama kye kiddukiro kye: 19PSA014.007 Oh that the salvation of Israel were come out of Zion! when the LORD bringeth back the captivity of his people, Jacob shall rejoice, and Israel shall be glad. %%% Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni! Mukama bw'alizzaayo obusibe obw'abantu be, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza. 19PSA015.001 Lord, who shall abide in thy tabernacle? who shall dwell in thy holy hill? %%% Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani? 19PSA015.002 He that walketh uprightly, and worketh righteousness, and speaketh the truth in his heart. %%% Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Era ayogera eby'amazima mu mutima gwe. 19PSA015.003 He that backbiteth not with his tongue, nor doeth evil to his neighbour, nor taketh up a reproach against his neighbour. %%% Atawaayiriza n'olulimi lwe, So mukwano gwe tamukola bubi, So takkiriza kibi ku muliraanwa we. 19PSA015.004 In whose eyes a vile person is contemned; but he honoureth them that fear the LORD. He that sweareth to his own hurt, and changeth not. %%% Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa takyuka. 19PSA015.005 He that putteth not out his money to usury, nor taketh reward against the innocent. He that doeth these things shall never be moved. %%% Atawolera bintu bye magoba. So taweebwa mpeera ku atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna. 19PSA016.001 Preserve me, O God: for in thee do I put my trust. %%% Onkuume, ai Katonda: kubanga nkwesiga ggwe. 19PSA016.002 O my soul, thou hast said unto the LORD, Thou art my Lord: my goodness extendeth not to thee; %%% ŋŋambye Mukama nti Ggwe oli Mukama wange: Sirina bulungi bwonna awatali ggwe. 19PSA016.003 But to the saints that are in the earth, and to the excellent, in whom is all my delight. %%% Abatukuvu abali mu nsi, Abo be basinga obulungi, be nsanyukira essanyu lyange lyonna. 19PSA016.004 Their sorrows shall be multiplied that hasten after another god: their drink offerings of blood will I not offer, nor take up their names into my lips. %%% Okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako abo abawaanyisa Mukama olwa katonda Omulala: Esaddaaka zaabwe ez'okunywa ez'omusaayi ssiiziwengayo. So ssiitwalenga mannya gaabwe mu mimwa gyange. 19PSA016.005 The LORD is the portion of mine inheritance and of my cup: thou maintainest my lot. %%% Mukama gwe mugabo ogw'obusika bwange n'ogw'ekikompe kyange: Gwe okuuma ebyange. 19PSA016.006 The lines are fallen unto me in pleasant places; yea, I have a goodly heritage. %%% Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi; Mazima nnina obusika obulungi. 19PSA016.007 I will bless the LORD, who hath given me counsel: my reins also instruct me in the night seasons. %%% Neebazanga Mukama, anteeserezza ebigambo: Mazima, emmeeme yange enjigiriza mu biseera eby'ekiro. 19PSA016.008 I have set the LORD always before me: because he is at my right hand, I shall not be moved. %%% Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana. 19PSA016.009 Therefore my heart is glad, and my glory rejoiceth: my flesh also shall rest in hope. %%% Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'ekitiibwa kyange kijaguza: Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe. 19PSA016.010 For thou wilt not leave my soul in hell; neither wilt thou suffer thine Holy One to see corruption. %%% Kubanga tolireka mmeeme yange mu magombe; So toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda. 19PSA016.011 Thou wilt shew me the path of life: in thy presence is fulness of joy; at thy right hand there are pleasures for evermore. %%% Onondaganga ekkubo ery'obulamu: Gy'oli waliwo essanyu erituukirira; Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe. 19PSA017.001 Hear the right, O LORD, attend unto my cry, give ear unto my prayer, that goeth not out of feigned lips. %%% Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ai Mukama, lowooza okukaaba kwange; Tega okutu owulire okusaba kwange, okutava mu mimwa egy'obukuusa. 19PSA017.002 Let my sentence come forth from thy presence; let thine eyes behold the things that are equal. %%% Omusango gwange guve w'oli; Amaaso go gatunuulire obutuukirivu. 19PSA017.003 Thou hast proved mine heart; thou hast visited me in the night; thou hast tried me, and shalt find nothing; I am purposed that my mouth shall not transgress. %%% Wagezaako omutima gwange; wajja gye ndi ekiro; Wankema, n'otolaba kigambo; Mmaliridde akamwa kange obutayonoonanga. 19PSA017.004 Concerning the works of men, by the word of thy lips I have kept me from the paths of the destroyer. %%% Mu bikolwa by'abantu, olw'ekigambo eky'emimwa gyo Neekuumanga mu makubo ag'abantu abalina ekyejo 19PSA017.005 Hold up my goings in thy paths, that my footsteps slip not. %%% Olugendo lwange lwanywera mu makubo go, Ebigere byange tebiseereranga. 19PSA017.006 I have called upon thee, for thou wilt hear me, O God: incline thine ear unto me, and hear my speech. %%% Nkukoowodde, kubanga ggwe ononziramu, ai Katonda: Ontegere okutu kwo, ompulire bye njogera. 19PSA017.007 Shew thy marvellous lovingkindness, O thou that savest by thy right hand them which put their trust in thee from those that rise up against them. %%% Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, Mu abo ababagolokokerako, n'omukono gwo ogwa ddyo. 19PSA017.008 Keep me as the apple of the eye, hide me under the shadow of thy wings, %%% Onkuume ng'emmunye ey'eriiso, Onkise mu kisiikirize eky'ebiwawaatiro byo, 19PSA017.009 From the wicked that oppress me, from my deadly enemies, who compass me about. %%% Mu babi abannyaga, Mu balabe bange abaagala okunzita, abanzingiza. 19PSA017.010 They are inclosed in their own fat: with their mouth they speak proudly. %%% Babikkiddwa amasavu gaabwe: N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala. 19PSA017.011 They have now compassed us in our steps: they have set their eyes bowing down to the earth; %%% Kaakano batuzingizizza mu bigere byaffe: Bakaliriza amaaso gaabwe okutusuula wansi. 19PSA017.012 Like as a lion that is greedy of his prey, and as it were a young lion lurking in secret places. %%% Afaanana ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo, Era ng'omwana gw'empologoma ogw'ekisa we guteegera. 19PSA017.013 Arise, O LORD, disappoint him, cast him down: deliver my soul from the wicked, which is thy sword: %%% Golokoka, ai Mukama, Omuyimirire mu maaso, omumegge wansi: Omponye emmeeme yange eri omubi n'ekitala kyo; 19PSA017.014 From men which are thy hand, O LORD, from men of the world, which have their portion in this life, and whose belly thou fillest with thy hid treasure: they are full of children, and leave the rest of their substance to their babes. %%% Eri abantu n'omukono gwo, ai Mukama, Eri abantu ab'ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno, N'olubuto lwabwe olujjuza obugagga bwo: Banyiye abaana, N'ebintu byabwe ebisigalawo babirekera abaana baabwe. 19PSA017.015 As for me, I will behold thy face in righteousness: I shall be satisfied, when I awake, with thy likeness. %%% Nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu: Ndimatira bwe ndizuukuka n'ekifaananyi kyo. 19PSA018.001 I will love thee, O LORD, my strength. %%% Nkwagala ggwe, ai Mukama, amaanyi gange. 19PSA018.002 The LORD is my rock, and my fortress, and my deliverer; my God, my strength, in whom I will trust; my buckler, and the horn of my salvation, and my high tower. %%% Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga; Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu. 19PSA018.003 I will call upon the LORD, who is worthy to be praised: so shall I be saved from mine enemies. %%% Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa: Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange. 19PSA018.004 The sorrows of death compassed me, and the floods of ungodly men made me afraid. %%% Emigwa egy'okufa gyansiba, N'ebitaba eby'obutatya Katonda byantiisa. 19PSA018.005 The sorrows of hell compassed me about: the snares of death prevented me. %%% Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Emitego egy'olumbe gyankwasa. 19PSA018.006 In my distress I called upon the LORD, and cried unto my God: he heard my voice out of his temple, and my cry came before him, even into his ears. %%% Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge. 19PSA018.007 Then the earth shook and trembled; the foundations also of the hills moved and were shaken, because he was wroth. %%% Ensi n'eryoka ekankana n'esagaasagana, Era n'emisingi gy'ensozi ne gikankana ne ginyeenyezebwa, Kubanga asunguwadde. 19PSA018.008 There went up a smoke out of his nostrils, and fire out of his mouth devoured: coals were kindled by it. %%% Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze, N'omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya: Ne gukoleeza amanda. 19PSA018.009 He bowed the heavens also, and came down: and darkness was under his feet. %%% Era n'eggulu n'alikutamya, n'akka; N'ekizikiza ekinene ne kiba wansi w'ebigere bye. 19PSA018.010 And he rode upon a cherub, and did fly: yea, he did fly upon the wings of the wind. %%% Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Era n'abuuka mangu ku biwaawaatiro eby'empewo. 19PSA018.011 He made darkness his secret place; his pavilion round about him were dark waters and thick clouds of the skies. %%% Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu, eweema ye emwetoolodde; Ekizikiza eky'amazzi, ebire ebikutte eby'omu ggulu. 19PSA018.012 At the brightness that was before him his thick clouds passed, hail stones and coals of fire. %%% Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ebire bye ebikutte ne biyita, Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro. 19PSA018.013 The LORD also thundered in the heavens, and the Highest gave his voice; hail stones and coals of fire. %%% Era Mukama n'abwatuka mu ggulu N'oyo ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye; Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro. 19PSA018.014 Yea, he sent out his arrows, and scattered them; and he shot out lightnings, and discomfited them. %%% N'alasa obusaale bwe n'abasaasaanya; N'alasa enjota nnyingi n'abeeraliikiriza. 19PSA018.015 Then the channels of waters were seen, and the foundations of the world were discovered at thy rebuke, O LORD, at the blast of the breath of thy nostrils. %%% Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Mu kunenya kwo, ai Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo, 19PSA018.016 He sent from above, he took me, he drew me out of many waters. %%% Yatuma okuva waggulu, n'antwala; N'ampalula mu mazzi amangi. 19PSA018.017 He delivered me from my strong enemy, and from them which hated me: for they were too strong for me. %%% Yamponya eri mulabe wange ow'amaanyi, N'eri abo abankyawa, kubanga bansinza amaanyi nze. 19PSA018.018 They prevented me in the day of my calamity: but the LORD was my stay. %%% Banjijira ku lunaku olw'akabi kange: Naye Mukama ye yannyweza. 19PSA018.019 He brought me forth also into a large place; he delivered me, because he delighted in me. %%% Era n'anfulumya mu kifo ekigazi; Yamponya, kubanga yansanyukira. 19PSA018.020 The LORD rewarded me according to my righteousness; according to the cleanness of my hands hath he recompensed me. %%% Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde. 19PSA018.021 For I have kept the ways of the LORD, and have not wickedly departed from my God. %%% Kubanga nakwata amakubo ga Mukama, Ne ssireka Katonda wange n'obubi. 19PSA018.022 For all his judgments were before me, and I did not put away his statutes from me. %%% Kubanga emisango gye gyonna gyali mu maaso gange, So amateeka ge saagaggyaawo gye ndi. 19PSA018.023 I was also upright before him, and I kept myself from mine iniquity. %%% Era nali eyatuukirira gy'ali. Ne nneekuuma mu bubi bwange. 19PSA018.024 Therefore hath the LORD recompensed me according to my righteousness, according to the cleanness of my hands in his eyesight. %%% Mukama kyavudde ansasula, ng'obutuukirivu bwange bwe buli, Emikono gyange nga bwe giri emirungi mu maaso ge. 19PSA018.025 With the merciful thou wilt shew thyself merciful; with an upright man thou wilt shew thyself upright; %%% Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira; 19PSA018.026 With the pure thou wilt shew thyself pure; and with the froward thou wilt shew thyself froward. %%% Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu; N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza. 19PSA018.027 For thou wilt save the afflicted people; but wilt bring down high looks. %%% Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa; Naye amaaso ag'amalala onoogatoowazanga. 19PSA018.028 For thou wilt light my candle: the LORD my God will enlighten my darkness. %%% Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange. Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange. 19PSA018.029 For by thee I have run through a troop; and by my God have I leaped over a wall. %%% Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina; Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo. 19PSA018.030 As for God, his way is perfect: the word of the LORD is tried: he is a buckler to all those that trust in him. %%% Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga. 19PSA018.031 For who is God save the LORD? or who is a rock save our God? %%% Kubanga ani Katonda, wabula Mukama? Era ani olwazi, wabula Katonda waffe? 19PSA018.032 It is God that girdeth me with strength, and maketh my way perfect. %%% Katonda ansibya amaanyi, Era atuukiriza ekkubo lyange. 19PSA018.033 He maketh my feet like hinds' feet, and setteth me upon my high places. %%% Afuula ebigere byange ng'eby'empeewo: Era angulumiza mu bifo byange ebya waggulu. 19PSA018.034 He teacheth my hands to war, so that a bow of steel is broken by mine arms. %%% Anjigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo. 19PSA018.035 Thou hast also given me the shield of thy salvation: and thy right hand hath holden me up, and thy gentleness hath made me great. %%% Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, N'obuwombeefu bwo bungulumizizza. 19PSA018.036 Thou hast enlarged my steps under me, that my feet did not slip. %%% Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange, N'ebisinziiro byange tebiseereranga. 19PSA018.037 I have pursued mine enemies, and overtaken them: neither did I turn again till they were consumed. %%% Ndigoberera abalabe bange, ne mbatuukako: So ssirikomawo nga tebannazikirizibwa. 19PSA018.038 I have wounded them that they were not able to rise: they are fallen under my feet. %%% Ndibafumitira ddala ne batayinza kuyimuka: Baligwa wansi w'ebigere byange. 19PSA018.039 For thou hast girded me with strength unto the battle: thou hast subdued under me those that rose up against me. %%% Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Obafukamizza mu maaso gange abannyimukirako. 19PSA018.040 Thou hast also given me the necks of mine enemies; that I might destroy them that hate me. %%% Era abalabe bange obakyusizza amabega gaabwe gye ndi, Ndyoke nzikirize abankyawa. 19PSA018.041 They cried, but there was none to save them: even unto the LORD, but he answered them not. %%% Baakoowoola, naye tewaali mulokozi: Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu. 19PSA018.042 Then did I beat them small as the dust before the wind: I did cast them out as the dirt in the streets. %%% Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbasuula ng'ebitosi eby'omu nguudo. 19PSA018.043 Thou hast delivered me from the strivings of the people; and thou hast made me the head of the heathen: a people whom I have not known shall serve me. %%% Omponyezza mu kuyomba kw'abantu; Onfudde omutwe gw'amawanga; Abantu be ssaamanyanga balimpeereza. 19PSA018.044 As soon as they hear of me, they shall obey me: the strangers shall submit themselves unto me. %%% Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera: Bannaggwanga balinjeemulukukira. 19PSA018.045 The strangers shall fade away, and be afraid out of their close places. %%% Bannaggwanga baliggwaawo, Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana. 19PSA018.046 The LORD liveth; and blessed be my rock; and let the God of my salvation be exalted. %%% Mukama mulamu; olwazi lwange atenderezebwe; Era agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange : 19PSA018.047 It is God that avengeth me, and subdueth the people under me. %%% Ye Katonda ampalanira eggwanga Era awangula amawanga ngafuge. 19PSA018.048 He delivereth me from mine enemies: yea, thou liftest me up above those that rise up against me: thou hast delivered me from the violent man. %%% Amponya eri abalabe bange: Weewaawo, ongulumiza ku abo abannyimukirako: Ondokola eri omuntu ow'ekyejo 19PSA018.049 Therefore will I give thanks unto thee, O LORD, among the heathen, and sing praises unto thy name. %%% Kyennaavanga nkwebaza ggwe, ai Mukama, mu mawanga, Naayimbanga okutendereza erinnya lyo. 19PSA018.050 Great deliverance giveth he to his king; and sheweth mercy to his anointed, to David, and to his seed for evermore. %%% Obulokozi bukulu bw'awa kabaka we; Era amukolera eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe. 19PSA019.001 The heavens declare the glory of God; and the firmament sheweth his handywork. %%% Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye. 19PSA019.002 Day unto day uttereth speech, and night unto night sheweth knowledge. %%% Omusana gugamba ebigambo omusana, N'ekiro kiraga amagezi ekiro. 19PSA019.003 There is no speech nor language, where their voice is not heard. %%% Siwali bigambo newakubadde olulimi; Eddoboozi lyabyo teriwulikika. 19PSA019.004 Their line is gone out through all the earth, and their words to the end of the world. In them hath he set a tabernacle for the sun, %%% Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Abiteekeddemu enjuba eweema, 19PSA019.005 Which is as a bridegroom coming out of his chamber, and rejoiceth as a strong man to run a race. %%% Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye, Era esanyuka ng'ow'amaanyi okuyita mu lugendo lwayo. 19PSA019.006 His going forth is from the end of the heaven, and his circuit unto the ends of it: and there is nothing hid from the heat thereof. %%% Evaayo ku nkomerero y'eggulu, Ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo: So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo. 19PSA019.007 The law of the LORD is perfect, converting the soul: the testimony of the LORD is sure, making wise the simple. %%% Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi. 19PSA019.008 The statutes of the LORD are right, rejoicing the heart: the commandment of the LORD is pure, enlightening the eyes. %%% Okuyigiriza kwa Mukama kwabutuukirivu, okusanyusa omutima: Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso. 19PSA019.009 The fear of the LORD is clean, enduring for ever: the judgments of the LORD are true and righteous altogether. %%% Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna: Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala: 19PSA019.010 More to be desired are they than gold, yea, than much fine gold: sweeter also than honey and the honeycomb. %%% Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n'ezaabu ennyingi ennungi: Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo. 19PSA019.011 Moreover by them is thy servant warned: and in keeping of them there is great reward. %%% Era ebyo bye birabula omuddu wo: Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene. 19PSA019.012 Who can understand his errors? cleanse thou me from secret faults. %%% Ani ayinza okukebera ebyonoono bye? Onnongoose mu bibi ebikisibwa. 19PSA019.013 Keep back thy servant also from presumptuous sins; let them not have dominion over me: then shall I be upright, and I shall be innocent from the great transgression. %%% Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo; Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga. 19PSA019.014 Let the words of my mouth, and the meditation of my heart, be acceptable in thy sight, O LORD, my strength, and my redeemer. %%% Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange. 19PSA020.001 The LORD hear thee in the day of trouble; the name of the God of Jacob defend thee; %%% Mukama akuddemu ku lunaku olw'okunakuwala; Erinnya lya Katonda wa Yakobo likugulumizenga waggulu; 19PSA020.002 Send thee help from the sanctuary, and strengthen thee out of Zion; %%% Akuweerezenga okubeerwa mu kifo ekitukuvu, Akuwenga amaanyi agava mu Sayuuni; 19PSA020.003 Remember all thy offerings, and accept thy burnt sacrifice; Selah. %%% Ajjukirenga bye wawaayo byonna, Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; (Seera) 19PSA020.004 Grant thee according to thine own heart, and fulfil all thy counsel. %%% Akuweenga omutima gwo kye gwagala, Atuukirizenga okuteesa kwo kwonna. 19PSA020.005 We will rejoice in thy salvation, and in the name of our God we will set up our banners: the LORD fulfil all thy petitions. %%% Tunaawangulanga mu bulokozi bwo, Ne mu linnya lya Katonda waffe tunaawanikanga ebendera zaffe: Mukama atuukirizenga by'osaba byonna. 19PSA020.006 Now know I that the LORD saveth his anointed; he will hear him from his holy heaven with the saving strength of his right hand. %%% Kaakano mmanyi nga Mukama alokola oyo gwe yasiiga amafuta; Alimuddamu ng'ayima mu ggulu lye ettukuvu N'obulokozi obuwonya obw'omukono gwe ogwa ddyo. 19PSA020.007 Some trust in chariots, and some in horses: but we will remember the name of the LORD our God. %%% Abalala beesiga amagaali, n'abalala beesiga embalaasi: Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe. 19PSA020.008 They are brought down and fallen: but we are risen, and stand upright. %%% Bakutamye bo ne bagwa: Naye ffe tugolokose, ne tuyimirira. 19PSA020.009 Save, LORD: let the king hear us when we call. %%% Lokola, Mukama: Kabaka atuddemu bwe tukoowoola. 19PSA021.001 The king shall joy in thy strength, O LORD; and in thy salvation how greatly shall he rejoice! %%% Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama; N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo! 19PSA021.002 Thou hast given him his heart's desire, and hast not withholden the request of his lips. Selah. %%% Omuwadde omutima gwe kye gwagala, So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera) 19PSA021.003 For thou preventest him with the blessings of goodness: thou settest a crown of pure gold on his head. %%% Kubanga omusisinkanye n'eby'omukisa eby'obulungi: Omuteekako ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi. 19PSA021.004 He asked life of thee, and thou gavest it him, even length of days for ever and ever. %%% Yakusaba obulamu, n'obumuwa; Era n'ennaku ennyingi ez'emirembe n'emirembe. 19PSA021.005 His glory is great in thy salvation: honour and majesty hast thou laid upon him. %%% Ekitiibwa kye kingi mu bulokozi bwo: Ekitiibwa n'obukulu obimussaako. 19PSA021.006 For thou hast made him most blessed for ever: thou hast made him exceeding glad with thy countenance. %%% Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna: Omusanyusa essanyu mu maaso go. 19PSA021.007 For the king trusteth in the LORD, and through the mercy of the most High he shall not be moved. %%% Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga. 19PSA021.008 Thine hand shall find out all thine enemies: thy right hand shall find out those that hate thee. %%% Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa. 19PSA021.009 Thou shalt make them as a fiery oven in the time of thine anger: the LORD shall swallow them up in his wrath, and the fire shall devour them. %%% Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya. 19PSA021.010 Their fruit shalt thou destroy from the earth, and their seed from among the children of men. %%% Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi, N'ezzadde lyabwe mu baana b'abantu. 19PSA021.011 For they intended evil against thee: they imagined a mischievous device, which they are not able to perform. %%% Kubanga baakuteeseza obubi: Baasala olukwe, lwe bataayinza kukola. 19PSA021.012 Therefore shalt thou make them turn their back, when thou shalt make ready thine arrows upon thy strings against the face of them. %%% Kubanga olibazza ennyuma, Oliteekateeka engoye zo ez'omutego ku maaso gaabwe. 19PSA021.013 Be thou exalted, LORD, in thine own strength: so will we sing and praise thy power. %%% Ogulumizibwenga, ai Mukama, mu maanyi go: Tulyoke tuyimbenga tutenderezenga obuyinza bwo. 19PSA022.001 My God, my God, why hast thou forsaken me? why art thou so far from helping me, and from the words of my roaring? %%% Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange? 19PSA022.002 O my God, I cry in the day time, but thou hearest not; and in the night season, and am not silent. %%% Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu; Era n'ekiro, so ssisirika. 19PSA022.003 But thou art holy, O thou that inhabitest the praises of Israel. %%% Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri. 19PSA022.004 Our fathers trusted in thee: they trusted, and thou didst deliver them. %%% Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe: Beesiganga, naawe n'obawonya. 19PSA022.005 They cried unto thee, and were delivered: they trusted in thee, and were not confounded. %%% Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi. 19PSA022.006 But I am a worm, and no man; a reproach of men, and despised of the people. %%% Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu; Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma. 19PSA022.007 All they that see me laugh me to scorn: they shoot out the lip, they shake the head, saying, %%% Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti 19PSA022.008 He trusted on the LORD that he would deliver him: let him deliver him, seeing he delighted in him. %%% Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole: Amuwonye, kubanga amusanyukira. 19PSA022.009 But thou art he that took me out of the womb: thou didst make me hope when I was upon my mother's breasts. %%% Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange: Ggwe wanneesiza bwe nnali nga nkyali ku mabeere ga mmange. 19PSA022.010 I was cast upon thee from the womb: thou art my God from my mother's belly. %%% Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange: Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange. 19PSA022.011 Be not far from me; for trouble is near; for there is none to help. %%% Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi; Kubanga tewali anannyamba. 19PSA022.012 Many bulls have compassed me: strong bulls of Bashan have beset me round. %%% Zisseddume nnyingi zinneetoolodde: Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza. 19PSA022.013 They gaped upon me with their mouths, as a ravening and a roaring lion. %%% Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma. 19PSA022.014 I am poured out like water, and all my bones are out of joint: my heart is like wax; it is melted in the midst of my bowels. %%% Nfukibwa ng'amazzi, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuuse wakati mu byenda byange. 19PSA022.015 My strength is dried up like a potsherd; and my tongue cleaveth to my jaws; and thou hast brought me into the dust of death. %%% Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo; N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange; Era ondeese mu nfuufu ey'okufa. 19PSA022.016 For dogs have compassed me: the assembly of the wicked have inclosed me: they pierced my hands and my feet. %%% Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange. 19PSA022.017 I may tell all my bones: they look and stare upon me. %%% Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso: 19PSA022.018 They part my garments among them, and cast lots upon my vesture. %%% Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange: 19PSA022.019 But be not thou far from me, O LORD: O my strength, haste thee to help me. %%% Naye tobeera wala, ai Mukama: Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira. 19PSA022.020 Deliver my soul from the sword; my darling from the power of the dog. %%% Wonya emmeeme yange eri ekitala; Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa: 19PSA022.021 Save me from the lion's mouth: for thou hast heard me from the horns of the unicorns. %%% Ondokole mu kamwa k'empologama; Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu. 19PSA022.022 I will declare thy name unto my brethren: in the midst of the congregation will I praise thee. %%% Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: Wakati mu kibiina naakutenderezanga. 19PSA022.023 Ye that fear the LORD, praise him; all ye the seed of Jacob, glorify him; and fear him, all ye the seed of Israel. %%% Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri. 19PSA022.024 For he hath not despised nor abhorred the affliction of the afflicted; neither hath he hid his face from him; but when he cried unto him, he heard. %%% Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira. 19PSA022.025 My praise shall be of thee in the great congregation: I will pay my vows before them that fear him. %%% Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya. 19PSA022.026 The meek shall eat and be satisfied: they shall praise the LORD that seek him: your heart shall live for ever. %%% Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna. 19PSA022.027 All the ends of the world shall remember and turn unto the LORD: and all the kindreds of the nations shall worship before thee. %%% Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama: N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go. 19PSA022.028 For the kingdom is the LORD's: and he is the governor among the nations. %%% Kubanga obwakabaka bwa Mukama: Naye ye afuga amawanga. 19PSA022.029 All they that be fat upon earth shall eat and worship: all they that go down to the dust shall bow before him: and none can keep alive his own soul. %%% Abagevvu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa. 19PSA022.030 A seed shall serve him; it shall be accounted to the Lord for a generation. %%% Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja. 19PSA022.031 They shall come, and shall declare his righteousness unto a people that shall be born, that he hath done this. %%% Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa, nga ye abukola: 19PSA023.001 The LORD is my shepherd; I shall not want. %%% Mukama ye musumba wange; seetaagenga: 19PSA023.002 He maketh me to lie down in green pastures: he leadeth me beside the still waters. %%% Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto: Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu. 19PSA023.003 He restoreth my soul: he leadeth me in the paths of righteousness for his name's sake. %%% Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye. 19PSA023.004 Yea, though I walk through the valley of the shadow of death, I will fear no evil: for thou art with me; thy rod and thy staff they comfort me. %%% Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa. 19PSA023.005 Thou preparest a table before me in the presence of mine enemies: thou anointest my head with oil; my cup runneth over. %%% Onteekerateekera emmeeza mu maaso g'abalabe bange: Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa. 19PSA023.006 Surely goodness and mercy shall follow me all the days of my life: and I will dwell in the house of the LORD for ever. %%% Obulungi n'ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez'obulamu bwange: Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi. 19PSA024.001 The earth is the LORD's, and the fulness thereof; the world, and they that dwell therein. %%% Ensi ya Mukama, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu. 19PSA024.002 For he hath founded it upon the seas, and established it upon the floods. %%% Kubanga yagisimba ku nnyanja, Yaginyweza ku mazzi amangi. 19PSA024.003 Who shall ascend into the hill of the LORD? or who shall stand in his holy place? %%% Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyiminira mu kifo kye ekitukuvu? 19PSA024.004 He that hath clean hands, and a pure heart; who hath not lifted up his soul unto vanity, nor sworn deceitfully. %%% Oyo alina emikono emirungi, n'omutima omulongoofu; Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, So teyalayiriranga bwereere. 19PSA024.005 He shall receive the blessing from the LORD, and righteousness from the God of his salvation. %%% Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa, Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe. 19PSA024.006 This is the generation of them that seek him, that seek thy face, O Jacob. Selah. %%% Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera) 19PSA024.007 Lift up your heads, O ye gates; and be ye lift up, ye everlasting doors; and the King of glory shall come in. %%% Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne kabaka ow'ekitiibwa anaayingira. 19PSA024.008 Who is this King of glory? The LORD strong and mighty, the LORD mighty in battle. %%% Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'amaanyi ow'obuyinza Mukama ow'obuyinza mu kulwana. 19PSA024.009 Lift up your heads, O ye gates; even lift them up, ye everlasting doors; and the King of glory shall come in. %%% Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Kale, mugiyimuse, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne Kabaka ow'ekitiibwa anaayingira. 19PSA024.010 Who is this King of glory? The LORD of hosts, he is the King of glory. Selah. %%% Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa. (Seera) 19PSA025.001 Unto thee, O LORD, do I lift up my soul. %%% Gy'oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange. 19PSA025.002 O my God, I trust in thee: let me not be ashamed, let not mine enemies triumph over me. %%% Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe, Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi; Abalabe bange tobaganya kumpangula. 19PSA025.003 Yea, let none that wait on thee be ashamed: let them be ashamed which transgress without cause. %%% Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi: Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere. 19PSA025.004 Shew me thy ways, O LORD; teach me thy paths. %%% Ondage amakubo go, ai Mukama; Onjigirize empenda zo. 19PSA025.005 Lead me in thy truth, and teach me: for thou art the God of my salvation; on thee do I wait all the day. %%% Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange; Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba. 19PSA025.006 Remember, O LORD, thy tender mercies and thy lovingkindnesses; for they have been ever of old. %%% Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo; Kubanga byaliwo edda n'edda lyonna. 19PSA025.007 Remember not the sins of my youth, nor my transgressions: according to thy mercy remember thou me for thy goodness' sake, O LORD. %%% Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange: Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ai Mukama. 19PSA025.008 Good and upright is the LORD: therefore will he teach sinners in the way. %%% Mukama ye mulungi era wa mazima: Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi. 19PSA025.009 The meek will he guide in judgment: and the meek will he teach his way. %%% Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye. 19PSA025.010 All the paths of the LORD are mercy and truth unto such as keep his covenant and his testimonies. %%% Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe: 19PSA025.011 For thy name's sake, O LORD, pardon mine iniquity; for it is great. %%% Olw'erinnya lyo, ai Mukama, Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene. 19PSA025.012 What man is he that feareth the LORD? him shall he teach in the way that he shall choose. %%% Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga. 19PSA025.013 His soul shall dwell at ease; and his seed shall inherit the earth. %%% Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe; N'ezzadde lye linaasikiranga ensi. 19PSA025.014 The secret of the LORD is with them that fear him; and he will shew them his covenant. %%% Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya; Era anaabalaganga endagaano ye. 19PSA025.015 Mine eyes are ever toward the LORD; for he shall pluck my feet out of the net. %%% Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna; Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika. 19PSA025.016 Turn thee unto me, and have mercy upon me; for I am desolate and afflicted. %%% Onkyukire, onsaasire; Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona. 19PSA025.017 The troubles of my heart are enlarged: O bring thou me out of my distresses. %%% Ennaku ez'omutima gwange zeeyongedde: Kale onziye mu bibonoobono byange. 19PSA025.018 Look upon mine affliction and my pain; and forgive all my sins. %%% Lowooza ennaku zange n'okutegana kwange; Era onsonyiwe ebibi byange byonna. 19PSA025.019 Consider mine enemies; for they are many; and they hate me with cruel hatred. %%% Lowooza abalabe bange, kubanga bangi; Era bankyawa obukyayi obukambwe. 19PSA025.020 O keep my soul, and deliver me: let me not be ashamed; for I put my trust in thee. %%% Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga: Toŋŋanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe. 19PSA025.021 Let integrity and uprightness preserve me; for I wait on thee. %%% Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, Kubanga nnindirira ggwe. 19PSA025.022 Redeem Israel, O God, out of all his troubles. %%% Nunula Isiraeri, ai Katonda, Mu bibonoobono bye byonna. 19PSA026.001 Judge me, O LORD; for I have walked in mine integrity: I have trusted also in the LORD; therefore I shall not slide. %%% Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa. 19PSA026.002 Examine me, O LORD, and prove me; try my reins and my heart. %%% Onkebere, ai Mukama, onkeme; Ongezeeko emmeeme yange n'omutima gwange. 19PSA026.003 For thy lovingkindness is before mine eyes: and I have walked in thy truth. %%% Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange; Era natambuliranga mu mazima go. 19PSA026.004 I have not sat with vain persons, neither will I go in with dissemblers. %%% Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa. 19PSA026.005 I have hated the congregation of evil doers; and will not sit with the wicked. %%% Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa, So siituulenga wamu na babi. 19PSA026.006 I will wash mine hands in innocency: so will I compass thine altar, O LORD: %%% Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona; Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama: 19PSA026.007 That I may publish with the voice of thanksgiving, and tell of all thy wondrous works. %%% Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza, Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo: 19PSA026.008 LORD, I have loved the habitation of thy house, and the place where thine honour dwelleth. %%% Mukama, njagala ekisulo eky'omu nnyumba yo, N'ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu, 19PSA026.009 Gather not my soul with sinners, nor my life with bloody men: %%% Tonoga mmeeme yange wamu n'abalina ebibi, Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi: 19PSA026.010 In whose hands is mischief, and their right hand is full of bribes. %%% Emikono gyabwe girimu ettima, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi. 19PSA026.011 But as for me, I will walk in mine integrity: redeem me, and be merciful unto me. %%% Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange: Onnunule, era onsaasire. 19PSA026.012 My foot standeth in an even place: in the congregations will I bless the LORD. %%% Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: Mu bibiina neebazanga Mukama. 19PSA027.001 The LORD is my light and my salvation; whom shall I fear? the LORD is the strength of my life; of whom shall I be afraid? %%% Mukama gwe musana gwange n'obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag'obulamu bwange; anankankanyanga ye ani? 19PSA027.002 When the wicked, even mine enemies and my foes, came upon me to eat up my flesh, they stumbled and fell. %%% Abakola obubi bwe bannumba okulya omubiri gwange, Be balabe bange era abankyawa, ne beesittala ne bagwa. 19PSA027.003 Though an host should encamp against me, my heart shall not fear: though war should rise against me, in this will I be confident. %%% Newakubadde ng'eggye lisiisidde okunnwanyisa, Omutima gwange teguutyenga: Newakubadde ng'entalo zimbaddeko, Era ne mu ezo naagumanga omwoyo. 19PSA027.004 One thing have I desired of the LORD, that will I seek after; that I may dwell in the house of the LORD all the days of my life, to behold the beauty of the LORD, and to enquire in his temple. %%% Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okubuuzanga mu yeekaalu ye. 19PSA027.005 For in the time of trouble he shall hide me in his pavilion: in the secret of his tabernacle shall he hide me; he shall set me up upon a rock. %%% Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi. 19PSA027.006 And now shall mine head be lifted up above mine enemies round about me: therefore will I offer in his tabernacle sacrifices of joy; I will sing, yea, I will sing praises unto the LORD. %%% Ne kaakano omutwe gwange gunaayimusibwa ku balabe bange abanneetoolodde; Era naawaayo mu weema ye ssaddaaka ez'okusanyuka; Naayimbanga, weewaawo, naayimba okutendereza Mukama. 19PSA027.007 Hear, O LORD, when I cry with my voice: have mercy also upon me, and answer me. %%% Wulira, ai Mukama, bwe nkaaba n'eddoboozi lyange: Era onsaasire, onziremu. 19PSA027.008 When thou saidst, Seek ye my face; my heart said unto thee, Thy face, LORD, will I seek. %%% Bwe wagamba nti Munoonye amaaso gange; omutima gwange gwakugamba nti Amaaso go, Mukama, naaganoonyanga. 19PSA027.009 Hide not thy face far from me; put not thy servant away in anger: thou hast been my help; leave me not, neither forsake me, O God of my salvation. %%% Tonkisa amaaso go; Togoba muddu wo mu busungu: Ggwe wabeeranga omubeezi wange; Tonsuula, so tondeka, ai Katonda ow'obulokozi bwange. 19PSA027.010 When my father and my mother forsake me, then the LORD will take me up. %%% Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama ananjijanjabanga. 19PSA027.011 Teach me thy way, O LORD, and lead me in a plain path, because of mine enemies. %%% Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, Olw'abalabe bange. 19PSA027.012 Deliver me not over unto the will of mine enemies: for false witnesses are risen up against me, and such as breathe out cruelty. %%% Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala: Kubanga abawaayiriza bangolokokeddeko, n'abo abassa omukka ogw'obukambwe. 19PSA027.013 I had fainted, unless I had believed to see the goodness of the LORD in the land of the living. %%% Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu. 19PSA027.014 Wait on the LORD: be of good courage, and he shall strengthen thine heart: wait, I say, on the LORD. %%% Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama. 19PSA028.001 Unto thee will I cry, O LORD my rock; be not silent to me: lest, if thou be silent to me, I become like them that go down into the pit. %%% Ggwe, ai Mukama, naakukoowoolanga; Olwazi lwange, togaana kumpulira: Nneme okuba ng'abo abakka mu bunnya, Oba nga ononsiriikirira. 19PSA028.002 Hear the voice of my supplications, when I cry unto thee, when I lift up my hands toward thy holy oracle. %%% Wulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange, bwe nkukaabirira, Bwe nnyimusa emikono gyange eri ekifo ekitukuvu ky'oyogereramu. 19PSA028.003 Draw me not away with the wicked, and with the workers of iniquity, which speak peace to their neighbours, but mischief is in their hearts. %%% Tompalulira wamu n'ababi, N'abo abakola obutali butuukirivu; Aboogera eby'emirembe ne bannaabwe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe. 19PSA028.004 Give them according to their deeds, and according to the wickedness of their endeavours: give them after the work of their hands; render to them their desert. %%% Obawe ng'emirimu gyabwe bwe giri era ng'obubi obw'ebikolwa byabwe: Obawe ng'emikono gyabwe bwe gikola; Obasasule bye basaanidde. 19PSA028.005 Because they regard not the works of the LORD, nor the operation of his hands, he shall destroy them, and not build them up. %%% Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama, Newakubadde emikono gye bye gikola, Alibamenyaamenya so talibazimba. 19PSA028.006 Blessed be the LORD, because he hath heard the voice of my supplications. %%% Atenderezebwe Mukama, Kubanga awulidde eddoboozi ery'okwegayirira kwange. 19PSA028.007 The LORD is my strength and my shield; my heart trusted in him, and I am helped: therefore my heart greatly rejoiceth; and with my song will I praise him. %%% Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo; Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange. 19PSA028.008 The LORD is their strength, and he is the saving strength of his anointed. %%% Mukama ge maanyi gaabwe, Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta. 19PSA028.009 Save thy people, and bless thine inheritance: feed them also, and lift them up for ever. %%% Lokola abantu bo, owenga omukisa ab'obusika bwo: Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna. 19PSA029.001 Give unto the LORD, O ye mighty, give unto the LORD glory and strength. %%% Mumuwe Mukama, mmwe abaana b'abazira, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi. 19PSA029.002 Give unto the LORD the glory due unto his name; worship the LORD in the beauty of holiness. %%% Mumuwe Mukama ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira; Mumusinze Mukama mu butuukirivu obuwooma. 19PSA029.003 The voice of the LORD is upon the waters: the God of glory thundereth: the LORD is upon many waters. %%% Eddoboozi lya Mukama liri ku mazzi: Katonda ow'ekitiibwa abatuka, Ye Mukama, ku mazzi amangi. 19PSA029.004 The voice of the LORD is powerful; the voice of the LORD is full of majesty. %%% Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa. 19PSA029.005 The voice of the LORD breaketh the cedars; yea, the LORD breaketh the cedars of Lebanon. %%% Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Weewaawo, Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni. 19PSA029.006 He maketh them also to skip like a calf; Lebanon and Sirion like a young unicorn. %%% Era agizinyisa ng'ennyana; Lebanooni ne Siriyoni ng'ennyana y'embogo, 19PSA029.007 The voice of the LORD divideth the flames of fire. %%% Eddoboozi lya Mukama lyawula ennimi ez'omuliro. 19PSA029.008 The voice of the LORD shaketh the wilderness; the LORD shaketh the wilderness of Kadesh. %%% Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi. 19PSA029.009 The voice of the LORD maketh the hinds to calve, and discovereth the forests: and in his temple doth every one speak of his glory. %%% Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amabira, Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa. 19PSA029.010 The LORD sitteth upon the flood; yea, the LORD sitteth King for ever. %%% Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna. 19PSA029.011 The LORD will give strength unto his people; the LORD will bless his people with peace. %%% Mukama aliwa amaanyi abantu be; Mukama omukisa gw'aliwa abantu be gye mirembe. 19PSA030.001 I will extol thee, O LORD; for thou hast lifted me up, and hast not made my foes to rejoice over me. %%% Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza, N'otobampanguza abalabe bange. 19PSA030.002 O LORD my God, I cried unto thee, and thou hast healed me. %%% Ai Mukama Katonda wange, Naakukoowoola, naawe n'omponya. 19PSA030.003 O LORD, thou hast brought up my soul from the grave: thou hast kept me alive, that I should not go down to the pit. %%% Ai Mukama, walinnyisa emmeeme yange okuva mu magombe: Omponyezza okufa, nneme okukka mu bunnya. 19PSA030.004 Sing unto the LORD, O ye saints of his, and give thanks at the remembrance of his holiness. %%% Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be, N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga. 19PSA030.005 For his anger endureth but a moment; in his favour is life: weeping may endure for a night, but joy cometh in the morning. %%% Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde. 19PSA030.006 And in my prosperity I said, I shall never be moved. %%% Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti Sirisagaasagana emirembe gyonna. 19PSA030.007 LORD, by thy favour thou hast made my mountain to stand strong: thou didst hide thy face, and I was troubled. %%% Ggwe, Mukama, mu kisa kyo wali onywezezza olusozi lwange: N'okisa amaaso go; ne nneeraliikirira. 19PSA030.008 I cried to thee, O LORD; and unto the LORD I made supplication. %%% Ne nkukoowoola ggwe, ai Mukama; Era Mukama ne mwegayirira; 19PSA030.009 What profit is there in my blood, when I go down to the pit? Shall the dust praise thee? shall it declare thy truth? %%% Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya? Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go? 19PSA030.010 Hear, O LORD, and have mercy upon me: LORD, be thou my helper. %%% Wulira, ai Mukama, onsaasire: Mukama, ggwe beera omubeezi wange. 19PSA030.011 Thou hast turned for me my mourning into dancing: thou hast put off my sackcloth, and girded me with gladness; %%% Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina; Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu: 19PSA030.012 To the end that my glory may sing praise to thee, and not be silent. O LORD my God, I will give thanks unto thee for ever. %%% Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika. Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna. 19PSA031.001 In thee, O LORD, do I put my trust; let me never be ashamed: deliver me in thy righteousness. %%% Ai Mukama, nkwesiga ggwe; nneme okuswazibwanga emirembe gyonna: Ondokole mu butuukirivu bwo. 19PSA031.002 Bow down thine ear to me; deliver me speedily: be thou my strong rock, for an house of defence to save me. %%% Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola: Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya, 19PSA031.003 For thou art my rock and my fortress; therefore for thy name's sake lead me, and guide me. %%% Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye. 19PSA031.004 Pull me out of the net that they have laid privily for me: for thou art my strength. %%% Onziye mu kyambika kye banteze enkiso; Kubanga ggwe oli bbugwe wange. 19PSA031.005 Into thine hand I commit my spirit: thou hast redeemed me, O LORD God of truth. %%% Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow'amazima. 19PSA031.006 I have hated them that regard lying vanities: but I trust in the LORD. %%% Nkyawa abo abalowooza ebigambo eby'obulimba ebitaliimu: Naye neesiga Mukama. 19PSA031.007 I will be glad and rejoice in thy mercy: for thou hast considered my trouble; thou hast known my soul in adversities; %%% Naasanyukanga, naajaguzanga olw'okusaasira kwo: Kubanga walaba ebibonoobono byange; Wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku: 19PSA031.008 And hast not shut me up into the hand of the enemy: thou hast set my feet in a large room. %%% So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw'omulabe; Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi. 19PSA031.009 Have mercy upon me, O LORD, for I am in trouble: mine eye is consumed with grief, yea, my soul and my belly. %%% Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze: Eriiso lyange liweddemu olw'okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n'omubiri gwange. 19PSA031.010 For my life is spent with grief, and my years with sighing: my strength faileth because of mine iniquity, and my bones are consumed. %%% Kubanga obulamu bwange buyita n'okutegana, n'emyaka gyange giyita n'okusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'okwonoona kwange, n’amagumba gange gakozze. 19PSA031.011 I was a reproach among all mine enemies, but especially among my neighbours, and a fear to mine acquaintance: they that did see me without fled from me. %%% Ku lw'abalabe bange bonna nfuuse ekivume, Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange: Abandaba mu kkubo ne banziruka. 19PSA031.012 I am forgotten as a dead man out of mind: I am like a broken vessel. %%% Nneerabiddwa ng'omufu atalowoozebwa: Nfaanana ng'ekibya ekyatise. 19PSA031.013 For I have heard the slander of many: fear was on every side: while they took counsel together against me, they devised to take away my life. %%% Kubanga nawulira okuwaayiriza kw'abangi, Ensisi yanneetooloola: Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze, Ne basala amagezi okunziyako obulamu bwange. 19PSA031.014 But I trusted in thee, O LORD: I said, Thou art my God. %%% Naye nakwesiga ggwe, ai Mukama: Nayogera nti Ggwe Katonda wange. 19PSA031.015 My times are in thy hand: deliver me from the hand of mine enemies, and from them that persecute me. %%% Entuuko zange ziri mu mukono gwo: Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya. 19PSA031.016 Make thy face to shine upon thy servant: save me for thy mercies' sake. %%% Amaaso go gaakire omuddu wo: Ondokole mu kisa kyo. 19PSA031.017 Let me not be ashamed, O LORD; for I have called upon thee: let the wicked be ashamed, and let them be silent in the grave. %%% Nnemenga okukwatibwa ensonyi, ai Mukama; kubanga nkukoowodde ggwe: Ababi bakwatibwenga era basirikenga mu magombe. 19PSA031.018 Let the lying lips be put to silence; which speak grievous things proudly and contemptuously against the righteous. %%% Emimwa egy'obulimba gisiruwalenga; Egyogera ku batuukirivu n'ekyejo, N'amalala n'okunyooma. 19PSA031.019 Oh how great is thy goodness, which thou hast laid up for them that fear thee; which thou hast wrought for them that trust in thee before the sons of men! %%% Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu! 19PSA031.020 Thou shalt hide them in the secret of thy presence from the pride of man: thou shalt keep them secretly in a pavilion from the strife of tongues. %%% Gy'oli awakwekebwa w'onoobakisanga enkwe z'abantu: Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba. 19PSA031.021 Blessed be the LORD: for he hath shewed me his marvellous kindness in a strong city. %%% Atenderezebwenga Mukama: Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo. 19PSA031.022 For I said in my haste, I am cut off from before thine eyes: nevertheless thou heardest the voice of my supplications when I cried unto thee. %%% Nze nayogera nga nnyanguyiriza nti Nzikiridde mu maaso go: Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola. 19PSA031.023 O love the LORD, all ye his saints: for the LORD preserveth the faithful, and plentifully rewardeth the proud doer. %%% Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Era asasulira ddala mu bungi akola eby'amalala. 19PSA031.024 Be of good courage, and he shall strengthen your heart, all ye that hope in the LORD. %%% Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe, Mwenna abasuubira mu Mukama. 19PSA032.001 Blessed is he whose transgression is forgiven, whose sin is covered. %%% Aweereddwa omukisa asonyiyiddwa ekyonoono kye n'ekibi kye kikwekeddwa. 19PSA032.002 Blessed is the man unto whom the LORD imputeth not iniquity, and in whose spirit there is no guile. %%% Aweereddwa omukisa Mukama gw'atabalira butali butuukirivu. Ne mu mwoyo gwe temuli bukuusa. 19PSA032.003 When I kept silence, my bones waxed old through my roaring all the day long. %%% Bwe nnasirikanga, amagumba gange gaakaddiwanga, Olw'okukaaba kwange obudde okuziba. 19PSA032.004 For day and night thy hand was heavy upon me: my moisture is turned into the drought of summer. Selah. %%% Kubanga emisana n'ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga: Amazzi gange ne gakaliranga ng'olw'omusana ogw'ekyeya.(Seera) 19PSA032.005 I acknowledged my sin unto thee, and mine iniquity have I not hid. I said, I will confess my transgressions unto the LORD; and thou forgavest the iniquity of my sin. Selah. %%% Ne nkwatulira ekibi kyange, n'obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka: Nayogera nti Mukama naamwatulira ebyonoono byange; Naawe n'onsonyiwa obutali butuukirivu obw'ekibi kyange. (Seera) 19PSA032.006 For this shall every one that is godly pray unto thee in a time when thou mayest be found: surely in the floods of great waters they shall not come nigh unto him. %%% Ku lw'ekyo buli atya Katonda akusabenga mu biro by'oyinza okulabikiramu: Mazima mu ntaba ez'amazzi amangi tebalituuka gy'ali. 19PSA032.007 Thou art my hiding place; thou shalt preserve me from trouble; thou shalt compass me about with songs of deliverance. Selah. %%% Oli bwekweko bwange; ononkuumanga mu kulaba ennaku; Ononneetooloozanga ennyimba ez'obulokozi. (Seera) 19PSA032.008 I will instruct thee and teach thee in the way which thou shalt go: I will guide thee with mine eye. %%% Naakuyigirizanga naakulanganga mu kkubo ly'onooyitangamu: Naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe. 19PSA032.009 Be ye not as the horse, or as the mule, which have no understanding: whose mouth must be held in with bit and bridle, lest they come near unto thee. %%% Temuba nga mbalaasi, n'ennyumbu, ezitalina magezi: Ezigwanira okusibibwa ekyuma n'olukoba okuziziyiza, Awatali ebyo, tezirijja gy'oli. 19PSA032.010 Many sorrows shall be to the wicked: but he that trusteth in the LORD, mercy shall compass him about. %%% Ababi banaalabanga ennaku nnyingi: Naye oyo eyeesiga Mukama okusaasirwa kunaamwetooloolanga. 19PSA032.011 Be glad in the LORD, and rejoice, ye righteous: and shout for joy, all ye that are upright in heart. %%% Musanyukire Mukama, mujaguze, mmwe abatuukirivu: Mwogerere waggulu olw'essanyu, mwenna abalina omutima ogw'amazima. 19PSA033.001 Rejoice in the LORD, O ye righteous: for praise is comely for the upright. %%% Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima. 19PSA033.002 Praise the LORD with harp: sing unto him with the psaltery and an instrument of ten strings. %%% Mumwebaze Mukama n'ennanga: Muyimbe okumutendereza n'ennanga ey'engoye kkumi. 19PSA033.003 Sing unto him a new song; play skilfully with a loud noise. %%% Mumuyimbire oluyimba oluggya; Mukube ennanga n'amagezi n'eddoboozi ddene. 19PSA033.004 For the word of the LORD is right; and all his works are done in truth. %%% Kubanga ekigambo kya Mukama kigolokofu; N'omulimu gwe gwonna (agukola) mu bwesigwa. 19PSA033.005 He loveth righteousness and judgment: the earth is full of the goodness of the LORD. %%% Ayagala obutuukirivu n'amazima: Ensi ejjudde ekisa kya Mukama. 19PSA033.006 By the word of the LORD were the heavens made; and all the host of them by the breath of his mouth. %%% Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwake. 19PSA033.007 He gathereth the waters of the sea together as an heap: he layeth up the depth in storehouses. %%% Amazzi ag'omu nnyanja agakuŋŋaanya ng'entuumo: Atereka amadubi mu mawanika. 19PSA033.008 Let all the earth fear the LORD: let all the inhabitants of the world stand in awe of him. %%% Ensi zonna zityenga Mukama: Bonna abali mu nsi zonna bamukankanirenga. 19PSA033.009 For he spake, and it was done; he commanded, and it stood fast. %%% Kubanga yayogera ne kikolebwa; Yalagira ne kinywera. 19PSA033.010 The LORD bringeth the counsel of the heathen to nought: he maketh the devices of the people of none effect. %%% Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga: Adibya ebirowoozo by'abantu. 19PSA033.011 The counsel of the LORD standeth for ever, the thoughts of his heart to all generations. %%% Okuteesa kwa Mukama kunywera ennaku zonna, N'ebirowoozo by'omutima gwe okutuusa emirembe gyonna. 19PSA033.012 Blessed is the nation whose God is the LORD; and the people whom he hath chosen for his own inheritance. %%% Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo liweereddwa omukisa; Abantu be yalonda okuba obusika bwe ye. 19PSA033.013 The LORD looketh from heaven; he beholdeth all the sons of men. %%% Mukama alengera ng'ayima mu ggulu; Atunuulira abaana b'abantu bonna; 19PSA033.014 From the place of his habitation he looketh upon all the inhabitants of the earth. %%% Ng'ayima mu kifo eky'ekisulo kye alaba Ku abo abali mu nsi bonna; 19PSA033.015 He fashioneth their hearts alike; he considereth all their works. %%% Abumba emitima gyabwe bonna, Alowooza ebikolwa byabwe byonna. 19PSA033.016 There is no king saved by the multitude of an host: a mighty man is not delivered by much strength. %%% Tewali kabaka alokoka olw'eggye okuba eringi: Omuzira tawonyezebwa maanyi mangi. 19PSA033.017 An horse is a vain thing for safety: neither shall he deliver any by his great strength. %%% Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi. 19PSA033.018 Behold, the eye of the LORD is upon them that fear him, upon them that hope in his mercy; %%% Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe; 19PSA033.019 To deliver their soul from death, and to keep them alive in famine. %%% Okuwonyanga emmeeme yaabwe okufa, N'okubakuumanga abalamu mu njala. 19PSA033.020 Our soul waiteth for the LORD: he is our help and our shield. %%% Emmeeme yaffe erindiridde Mukama: Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe. 19PSA033.021 For our heart shall rejoice in him, because we have trusted in his holy name. %%% Kubanga omutima gwaffe gunaasanyukira oyo, Kubanga twesize erinnya lye ettukuvu. 19PSA033.022 Let thy mercy, O LORD, be upon us, according as we hope in thee. %%% Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubira mu ggwe. 19PSA034.001 I will bless the LORD at all times: his praise shall continually be in my mouth. %%% Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo. 19PSA034.002 My soul shall make her boast in the LORD: the humble shall hear thereof, and be glad. %%% Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama: Abawombeefu baliwulira, balisanyuka. 19PSA034.003 O magnify the LORD with me, and let us exalt his name together. %%% Mumukuze Mukama wamu nange, Tugulumize erinnya lye fenna. 19PSA034.004 I sought the LORD, and he heard me, and delivered me from all my fears. %%% Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna. 19PSA034.005 They looked unto him, and were lightened: and their faces were not ashamed. %%% Baamutunuulira, ne balaba omusana: Era amaaso gaabwe tegaakwatibwenga nsonyi emirembe gyonna. 19PSA034.006 This poor man cried, and the LORD heard him, and saved him out of all his troubles. %%% Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira, N'amulokola mu nnaku ze zonna. 19PSA034.007 The angel of the LORD encampeth round about them that fear him, and delivereth them. %%% Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola. 19PSA034.008 O taste and see that the LORD is good: blessed is the man that trusteth in him. %%% Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: Aweereddwa omukisa oyo amwesiga. 19PSA034.009 O fear the LORD, ye his saints: for there is no want to them that fear him. %%% Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: Kubanga tebabulwa kintu abamutya. 19PSA034.010 The young lions do lack, and suffer hunger: but they that seek the LORD shall not want any good thing. %%% Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna. 19PSA034.011 Come, ye children, hearken unto me: I will teach you the fear of the LORD. %%% Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: Naabayigirizanga okutya Mukama. 19PSA034.012 What man is he that desireth life, and loveth many days, that he may see good? %%% Muntu ki ayagala obulamu, Era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi? 19PSA034.013 Keep thy tongue from evil, and thy lips from speaking guile. %%% Ziyizanga olulimi lwo mu bubi, N'emimwa gyo obutoogeranga bukuusa. 19PSA034.014 Depart from evil, and do good; seek peace, and pursue it. %%% Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga. 19PSA034.015 The eyes of the LORD are upon the righteous, and his ears are open unto their cry. %%% Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, N'amatu ge gawulira okukaaba kwabwe. 19PSA034.016 The face of the LORD is against them that do evil, to cut off the remembrance of them from the earth. %%% Obwenyi bwa Mnkama buba ku abo abakola obubi, Amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi. 19PSA034.017 The righteous cry, and the LORD heareth, and delivereth them out of all their troubles. %%% Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna. 19PSA034.018 The LORD is nigh unto them that are of a broken heart; and saveth such as be of a contrite spirit. %%% Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde. 19PSA034.019 Many are the afflictions of the righteous: but the LORD delivereth him out of them all. %%% Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi: Naye Mukama amulokola mu byonna. 19PSA034.020 He keepeth all his bones: not one of them is broken. %%% Akuuma amagumba ge gonna: Linnaago erimu terimenyeka. 19PSA034.021 Evil shall slay the wicked: and they that hate the righteous shall be desolate. %%% Obubi bulitta omubi: N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango. 19PSA034.022 The LORD redeemeth the soul of his servants: and none of them that trust in him shall be desolate. %%% Mukama anunula emmeeme y'abaddu be: So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango. 19PSA035.001 Plead my cause, O LORD, with them that strive with me: fight against them that fight against me. %%% Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange. 19PSA035.002 Take hold of shield and buckler, and stand up for mine help. %%% Kwata engabo n'akagabo, Oyimirire okunnyamba. 19PSA035.003 Draw out also the spear, and stop the way against them that persecute me: say unto my soul, I am thy salvation. %%% Era sowola n'effumu, ozibire ekkubo abo abanjigganya: Ogambe emmeeme yange nti Nze bulokozi bwo. 19PSA035.004 Let them be confounded and put to shame that seek after my soul: let them be turned back and brought to confusion that devise my hurt. %%% Bakwatibwe ensonyi baswazibwe abanjigganya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma beeraliikirizibwe abateesa okunkola obubi. 19PSA035.005 Let them be as chaff before the wind: and let the angel of the LORD chase them. %%% Babeere ng'ebisusunku ebitwalibwa n'empewo, Era malayika wa Mukama ng'abagoba. 19PSA035.006 Let their way be dark and slippery: and let the angel of the LORD persecute them. %%% Ekkubo lyabwe libeere ekizikiza n'obuseerezi. Era malayika wa Mukama ng'abayigganya. 19PSA035.007 For without cause have they hid for me their net in a pit, which without cause they have digged for my soul. %%% Kubanga awatali nsonga bankisizza mu bunnya ekyambika kyabwe, Awatali nsonga basimidde emmeeme yange. 19PSA035.008 Let destruction come upon him at unawares; and let his net that he hath hid catch himself: into that very destruction let him fall. %%% Okuzikirira kumujjeko nga talaba; N'ekyambika kye kye yakisa kimukwate ye yennyini: Akigwemu n'okuzikirira: 19PSA035.009 And my soul shall be joyful in the LORD: it shall rejoice in his salvation. %%% N'emmeeme yange erisanyukira Mukama: Erijaguliza obulokozi bwe. 19PSA035.010 All my bones shall say, LORD, who is like unto thee, which deliverest the poor from him that is too strong for him, yea, the poor and the needy from him that spoileth him? %%% Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga? 19PSA035.011 False witnesses did rise up; they laid to my charge things that I knew not. %%% Abajulirwa abatali batuukirivu bagolokose; Bambuuza ebigambo bye ssimanyi. 19PSA035.012 They rewarded me evil for good to the spoiling of my soul. %%% Bansasula obubi ku lw'obulungi, Okweraliikiriza emmeeme yange. 19PSA035.013 But as for me, when they were sick, my clothing was sackcloth: I humbled my soul with fasting; and my prayer returned into mine own bosom. %%% Naye nze, bwe baalwala, nayambala bibukutu: Ne nteganya emmeeme yange n'okusiiba; N'okusaba kwange ne kudda mu kifuba kyange. 19PSA035.014 I behaved myself as though he had been my friend or brother: I bowed down heavily, as one that mourneth for his mother. %%% Ne mba nga bwe nnaakubadde, singa yali mukwano gwange oba muganda wange: Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina: 19PSA035.015 But in mine adversity they rejoiced, and gathered themselves together: yea, the abjects gathered themselves together against me, and I knew it not; they did tear me, and ceased not: %%% Naye bwe nnawenyera nze, ne basanyuka, ne bakuŋŋaana: Abagwagwa ne bankuŋŋaanirako, ne ssimanya; Ne banjuza, ne batalekaayo: 19PSA035.016 With hypocritical mockers in feasts, they gnashed upon me with their teeth. %%% Ng'abo abatatya Katonda abaduula mu mbaga, Bwe baaluma obujigi bwe batyo, nga bansunguwalira. 19PSA035.017 Lord, how long wilt thou look on? rescue my soul from their destructions, my darling from the lions. %%% Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Wonya emmeeme yange mu kuzikiriza kwabwe, Kaganzi kange mu mpologoma. 19PSA035.018 I will give thee thanks in the great congregation: I will praise thee among much people. %%% Ndikwebaliza mu kibiina ekinene: Ndikutenderereza mu bantu abangi. 19PSA035.019 Let not them that are mine enemies wrongfully rejoice over me: neither let them wink with the eye that hate me without a cause. %%% Abo abalabe bange baleme okunsanyukirako n'obulimba: Era abankyawa awatali nsonga baleme okutemya ekikowe. 19PSA035.020 For they speak not peace: but they devise deceitful matters against them that are quiet in the land. %%% Kubanga teboogera mirembe: Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abatereera mu nsi. 19PSA035.021 Yea, they opened their mouth wide against me, and said, Aha, aha, our eye hath seen it. %%% Era banjasaamiririra ddala akamwa kaabwe; Ne boogera nti Ggwe, ggwe, eriiso lyaffe lyakiraba. 19PSA035.022 This thou hast seen, O LORD: keep not silence: O Lord, be not far from me. %%% Ggwe wakiraba, si Mukama; tosirika: Ai Mukama, tombeera wala. 19PSA035.023 Stir up thyself, and awake to my judgment, even unto my cause, my God and my Lord. %%% Golokoka, ozuukuke okunsalira omusango, Era olw'ensonga yange, Katonda wange era Mukama wange. 19PSA035.024 Judge me, O LORD my God, according to thy righteousness; and let them not rejoice over me. %%% Onsalire omusango, ai Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; So tobaganya kunsanyukirako; 19PSA035.025 Let them not say in their hearts, Ah, so would we have it: let them not say, We have swallowed him up. %%% Baleme okwogera mu mutima gwabwe nti Bw'otyo bwe twagala bwe tutyo: Baleme okwogera nti Tumumize bugobo. 19PSA035.026 Let them be ashamed and brought to confusion together that rejoice at mine hurt: let them be clothed with shame and dishonour that magnify themselves against me. %%% Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna abasanyukira nze okulaba akabi: Bambale ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako. 19PSA035.027 Let them shout for joy, and be glad, that favour my righteous cause: yea, let them say continually, Let the LORD be magnified, which hath pleasure in the prosperity of his servant. %%% Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu: Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe, Asanyukira omukisa ogw'omuddu we. 19PSA035.028 And my tongue shall speak of thy righteousness and of thy praise all the day long. %%% N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, Ne ku ttendo lyo obudde okuziba. 19PSA036.001 The transgression of the wicked saith within my heart, that there is no fear of God before his eyes. %%% Ekyonoono ky'omubi kyogerera mu mutima gwange nti Tewali kutya Katonda mu maaso ge. 19PSA036.002 For he flattereth himself in his own eyes, until his iniquity be found to be hateful. %%% Kubanga yeenyumiririza mu maaso ge ye, Ng'obutali butuukirivu bwe tebulirabika ne bukyayibwa. 19PSA036.003 The words of his mouth are iniquity and deceit: he hath left off to be wise, and to do good. %%% Ebigambo eby'akamwa ke bwe butali butuukirivu n'obulimba: Alese okuba n'amagezi n'okukola obulungi. 19PSA036.004 He deviseth mischief upon his bed; he setteth himself in a way that is not good; he abhorreth not evil. %%% Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye; Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi; Takyawa bubi. 19PSA036.005 Thy mercy, O LORD, is in the heavens; and thy faithfulness reacheth unto the clouds. %%% Ekisa kyo, ai Mukama, kiri mu ggulu Obwesige bwo bubuna ebbanga. 19PSA036.006 Thy righteousness is like the great mountains; thy judgments are a great deep: O LORD, thou preservest man and beast. %%% Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi za Katonda; Emisango gyo bwe buziba obunene: Ai Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo. 19PSA036.007 How excellent is thy lovingkindness, O God! therefore the children of men put their trust under the shadow of thy wings. %%% Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. 19PSA036.008 They shall be abundantly satisfied with the fatness of thy house; and thou shalt make them drink of the river of thy pleasures. %%% Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo. Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo. 19PSA036.009 For with thee is the fountain of life: in thy light shall we see light. %%% Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu: Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana. 19PSA036.010 O continue thy lovingkindness unto them that know thee; and thy righteousness to the upright in heart. %%% Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya; N'obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima ogw'amazima. 19PSA036.011 Let not the foot of pride come against me, and let not the hand of the wicked remove me. %%% Toganya kigere kya malala okunjijirako, Newakubadde omukono gw'omubi okungoba. 19PSA036.012 There are the workers of iniquity fallen: they are cast down, and shall not be able to rise. %%% Eri gye bagudde abakola obutali butuukirivu; Bameggeddwa wansi, so tebaayinzenga kuyimuka. 19PSA037.001 Fret not thyself because of evildoers, neither be thou envious against the workers of iniquity. %%% Teweeraliikiriranga lw'abo abakola obubi, So tokwatibwanga buggya ku abo abakola ebitali bya butuukirivu. 19PSA037.002 For they shall soon be cut down like the grass, and wither as the green herb. %%% Kubanga balisalwa mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera. 19PSA037.003 Trust in the LORD, and do good; so shalt thou dwell in the land, and verily thou shalt be fed. %%% Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa. 19PSA037.004 Delight thyself also in the LORD: and he shall give thee the desires of thine heart. %%% Era sanyukiranga Mukama: Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba. 19PSA037.005 Commit thy way unto the LORD; trust also in him; and he shall bring it to pass. %%% Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga. 19PSA037.006 And he shall bring forth thy righteousness as the light, and thy judgment as the noonday. %%% Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana, N'omusango gwo ng'ettuntu. 19PSA037.007 Rest in the LORD, and wait patiently for him: fret not thyself because of him who prospereth in his way, because of the man who bringeth wicked devices to pass. %%% Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza: Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi. 19PSA037.008 Cease from anger, and forsake wrath: fret not thyself in any wise to do evil. %%% Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi: Teweeraliikiriranga; okwagala obwagazi okuleta obubi. 19PSA037.009 For evildoers shall be cut off: but those that wait upon the LORD, they shall inherit the earth. %%% Kubanga abakola obubi balizikirizibwa: Naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi. 19PSA037.010 For yet a little while, and the wicked shall not be: yea, thou shalt diligently consider his place, and it shall not be. %%% Kubanga waliba akaseera katono, n'omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. 19PSA037.011 But the meek shall inherit the earth; and shall delight themselves in the abundance of peace. %%% Naye abawombeefu balisikira ensi: Era banaasanyukiranga emirembe emingi. 19PSA037.012 The wicked plotteth against the just, and gnasheth upon him with his teeth. %%% Omubi yeekoba ku mutuukirivu, Era aluma bujigi ng'amusunguwalidde. 19PSA037.013 The LORD shall laugh at him: for he seeth that his day is coming. %%% Mukama alimusekerera: Kubanga alaba ng'olunaku lwe lujja. 19PSA037.014 The wicked have drawn out the sword, and have bent their bow, to cast down the poor and needy, and to slay such as be of upright conversation. %%% Ababi basowodde ekitala, baleeze omutego gwabwe; Okusuula omwavu n'omunafu, Okutta abo abatambulira mu kkubo n'amazima. 19PSA037.015 Their sword shall enter into their own heart, and their bows shall be broken. %%% Ekitala kyabwe kirifumita omutima gwabwe bo, N'emitego gyabwe girimenyeka. 19PSA037.016 A little that a righteous man hath is better than the riches of many wicked. %%% Ebitono omutuukirivu by'alina Bisinga obugagga obw'ababi abangi. 19PSA037.017 For the arms of the wicked shall be broken: but the LORD upholdeth the righteous. %%% Kubanga emikono gy'ababi girimenyeka: Naye Mukama anyweza abatuukirivu. 19PSA037.018 The LORD knoweth the days of the upright: and their inheritance shall be for ever. %%% Mukama amanyi ennaku z'abo abatuukiridde: N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna. 19PSA037.019 They shall not be ashamed in the evil time: and in the days of famine they shall be satisfied. %%% Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga. 19PSA037.020 But the wicked shall perish, and the enemies of the LORD shall be as the fat of lambs: they shall consume; into smoke shall they consume away. %%% Naye ababi balibula, N'abalabe ba Mukama baliba ng'ekisinga amasavu mu birundibwa: Balibula; balibulira ddala mu mukka. 19PSA037.021 The wicked borroweth, and payeth not again: but the righteous sheweth mercy, and giveth. %%% Omubi yeewola, n'atasasula nate: Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba. 19PSA037.022 For such as be blessed of him shall inherit the earth; and they that be cursed of him shall be cut off. %%% Kubanga abaweebwa omukisa gwe balisikira ensi; N'abo abakolimirwa ye balizikirizibwa. 19PSA037.023 The steps of a good man are ordered by the LORD: and he delighteth in his way. %%% Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama; Era asanyukira ekkubo lye. 19PSA037.024 Though he fall, he shall not be utterly cast down: for the LORD upholdeth him with his hand. %%% Newakubadde ng'agwa, talisuulirwa ddala wansi: Kubanga Mukama amunyweza n'omukono gwe. 19PSA037.025 I have been young, and now am old; yet have I not seen the righteous forsaken, nor his seed begging bread. %%% Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye , sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere. 19PSA037.026 He is ever merciful, and lendeth; and his seed is blessed. %%% Obudde okuziba akola eby'ekisa, n'awola; N'ezzadde lye liweebwa omukisa. 19PSA037.027 Depart from evil, and do good; and dwell for evermore. %%% Ovenga mu bubi, okolenga obulungi; Obeerengawo emirembe n'emirembe. 19PSA037.028 For the LORD loveth judgment, and forsaketh not his saints; they are preserved for ever: but the seed of the wicked shall be cut off. %%% Kubanga Mukama ayagala ensonga, Era taleka batukuvu be; Bakuumibwa emirembe gyonna: Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa. 19PSA037.029 The righteous shall inherit the land, and dwell therein for ever. %%% Abatuukirivu balisikira ensi, Banaagibeerangamu emirembe gyonna. 19PSA037.030 The mouth of the righteous speaketh wisdom, and his tongue talketh of judgment. %%% Akamwa k'omutuukuivu koogera eby'amagezi, N'olulimi lwe lubuulira ensonga. 19PSA037.031 The law of his God is in his heart; none of his steps shall slide. %%% Amateeka ga Katonda we gabeera mu mutima gwe; Mu lugendo lwe lwonna taaseererenga. 19PSA037.032 The wicked watcheth the righteous, and seeketh to slay him. %%% Omubi atunuulira omutuukirivu, Ng'ayagala okumutta. 19PSA037.033 The LORD will not leave him in his hand, nor condemn him when he is judged. %%% Mukama talimuleka mu mukono gwe, So talimusinza bw'alisalirwa omusango. 19PSA037.034 Wait on the LORD, and keep his way, and he shall exalt thee to inherit the land: when the wicked are cut off, thou shalt see it. %%% Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye, Naye alikugulumiza okusikira ensi: Ababi bwe balizikirizibwa oliraba. 19PSA037.035 I have seen the wicked in great power, and spreading himself like a green bay tree. %%% Nalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti ogumeze ku ttaka lyagwo. 19PSA037.036 Yet he passed away, and, lo, he was not: yea, I sought him, but he could not be found. %%% Naye bwe baayita, laba, taliiwo: Era namunoonya, naye teyalabika. 19PSA037.037 Mark the perfect man, and behold the upright: for the end of that man is peace. %%% Weekalirizenga oyo atuukiridde, olabenga ow'amazima: Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe. 19PSA037.038 But the transgressors shall be destroyed together: the end of the wicked shall be cut off. %%% Aboonoonyi, bo balizikirizibwa bonna: Enkomerero ddala ey'omubi erizikirizibwa. 19PSA037.039 But the salvation of the righteous is of the LORD: he is their strength in the time of trouble. %%% Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama: Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku. 19PSA037.040 And the LORD shall help them, and deliver them: he shall deliver them from the wicked, and save them, because they trust in him. %%% Era Mukama abayamba, n'abawonya: Abawonya eri ababi, n'abalokola, Kubanga beeyunye oyo. 19PSA038.001 O LORD, rebuke me not in thy wrath: neither chasten me in thy hot displeasure. %%% Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo: So tombuuliririra mu kiruyi kyo ekibuubuuka. 19PSA038.002 For thine arrows stick fast in me, and thy hand presseth me sore. %%% Kubanga obusaale bwo bunkwatidde ddala, N'omukono gwo gunnyigirizza nnyo. 19PSA038.003 There is no soundness in my flesh because of thine anger; neither is there any rest in my bones because of my sin. %%% Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; So temuli kuwona mu magumba gange olw'okwonoona kwange. 19PSA038.004 For mine iniquities are gone over mine head: as an heavy burden they are too heavy for me. %%% Kubanga obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange. Ng'omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye. 19PSA038.005 My wounds stink and are corrupt because of my foolishness. %%% Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange. 19PSA038.006 I am troubled; I am bowed down greatly; I go mourning all the day long. %%% Nnumiddwa, nkutamizibbwa nnyo; Ntambula nga nkaaba obudde okuziba. 19PSA038.007 For my loins are filled with a loathsome disease: and there is no soundness in my flesh. %%% Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange. 19PSA038.008 I am feeble and sore broken: I have roared by reason of the disquietness of my heart. %%% Nnyongobera, mmenyesemenyese: Mpulugumye olw'okweraliikirira kw'omutima gwange. 19PSA038.009 Lord, all my desire is before thee; and my groaning is not hid from thee. %%% Mukama, bye njagala byonna biri mu maaso go; N'okusinda kwange tekukukisibwa. 19PSA038.010 My heart panteth, my strength faileth me: as for the light of mine eyes, it also is gone from me. %%% Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu: Omusana ogw'amaaso gange, era nagwo gumbuze. 19PSA038.011 My lovers and my friends stand aloof from my sore; and my kinsmen stand afar off. %%% Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange; Ne baganda bange bayimirira wala. 19PSA038.012 They also that seek after my life lay snares for me: and they that seek my hurt speak mischievous things, and imagine deceits all the day long. %%% Era n'abo abanjigganya obulamu bwange banteega; N'abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby'ettima, Era balowooza eby'obulimba obudde okuziba. 19PSA038.013 But I, as a deaf man, heard not; and I was as a dumb man that openeth not his mouth. %%% Naye nze, ng'omuzibe w'amatu, ssiwulira; Era nninga omusiru atayasama kamwa ke. 19PSA038.014 Thus I was as a man that heareth not, and in whose mouth are no reproofs. %%% Mazima, nninga omuntu atawulira, Ne mu kamwa ke temuli kunenya. 19PSA038.015 For in thee, O LORD, do I hope: thou wilt hear, O Lord my God. %%% Kubanga eri ggwe, ai Mukama, gye nsuubira: Oliddamu, ai Mukama Katonda wange. 19PSA038.016 For I said, Hear me, lest otherwise they should rejoice over me: when my foot slippeth, they magnify themselves against me. %%% Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako: Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako. 19PSA038.017 For I am ready to halt, and my sorrow is continually before me. %%% Kubanga nze ndi kumpi n'okuwenyera, N'ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo. 19PSA038.018 For I will declare mine iniquity; I will be sorry for my sin. %%% Kubanga naayatulanga obutali butuukirivu bwange; Naanakuwalanga olw'okwonoona kwange. 19PSA038.019 But mine enemies are lively, and they are strong: and they that hate me wrongfully are multiplied. %%% Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi: N'abo abankyawa olw'obulimba beeyongedde. 19PSA038.020 They also that render evil for good are mine adversaries; because I follow the thing that good is. %%% Era n'abo abasasula obubi olw'obulungi. Be balabe bange, kubanga ngoberera ebigambo ebirungi. 19PSA038.021 Forsake me not, O LORD: O my God, be not far from me. %%% Tondeka, ai Mukama: Ai Katonda wange, tombeera wala. 19PSA038.022 Make haste to help me, O Lord my salvation. %%% Yanguwa okunnyamba, Ai Mukama, obulokozi bwange. 19PSA039.001 I said, I will take heed to my ways, that I sin not with my tongue: I will keep my mouth with a bridle, while the wicked is before me. %%% Nayogera nti Neekuumanga amakubo gange, Nnemenga okwonoonya olulimi lwange: Naasibanga akamwa kange n'olukoba, Omubi ng'ali mu maaso gange. 19PSA039.002 I was dumb with silence, I held my peace, even from good; and my sorrow was stirred. %%% Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera. 19PSA039.003 My heart was hot within me, while I was musing the fire burned: then spake I with my tongue, %%% Omutima gwange ne gwaka munda yange; Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera: Ne ndyoka njogera n'olulimi lwange: 19PSA039.004 LORD, make me to know mine end, and the measure of my days, what it is: that I may know how frail I am. %%% Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ekigera eky'ennaku zange bwe kiri; Ntegeere bwe ndi omumenyefu. 19PSA039.005 Behold, thou hast made my days as an handbreadth; and mine age is as nothing before thee: verily every man at his best state is altogether vanity. Selah. %%% Laba, ennaku zange wazikola ng'enta; N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, bw'anywerera ddala, mukka bukka. (Seera) 19PSA039.006 Surely every man walketh in a vain shew: surely they are disquieted in vain: he heapeth up riches, and knoweth not who shall gather them. %%% Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala. 19PSA039.007 And now, Lord, what wait I for? my hope is in thee. %%% Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi. 19PSA039.008 Deliver me from all my transgressions: make me not the reproach of the foolish. %%% Onziye mu byonoono byange byonna; Tonfuula kivume kya basirusiru. 19PSA039.009 I was dumb, I opened not my mouth; because thou didst it. %%% Nasiruwala, saayasamya kamwa kange; Kubanga wakikola. 19PSA039.010 Remove thy stroke away from me: I am consumed by the blow of thine hand. %%% Onzigyeko omuggo gwo: Mmaliddwamu amaanyi olw'okukuba kw'omukono gwo. 19PSA039.011 When thou with rebukes dost correct man for iniquity, thou makest his beauty to consume away like a moth: surely every man is vanity. Selah. %%% Bw'obuuliriranga omuntu n'okunenya olw'obutali butuukirivu, Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng'ennyenje: Mazima, buli muntu mukka. (Seera) 19PSA039.012 Hear my prayer, O LORD, and give ear unto my cry; hold not thy peace at my tears: for I am a stranger with thee, and a sojourner, as all my fathers were. %%% Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange; Tosirikira maziga gange: Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali. 19PSA039.013 O spare me, that I may recover strength, before I go hence, and be no more. %%% Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo. 19PSA040.001 I waited patiently for the LORD; and he inclined unto me, and heard my cry. %%% Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza; N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange. 19PSA040.002 He brought me up also out of an horrible pit, out of the miry clay, and set my feet upon a rock, and established my go0ings. %%% Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi; N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange. 19PSA040.003 And he hath put a new song in my mouth, even praise unto our God: many shall see it, and fear, and shall trust in the LORD. %%% Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama. 19PSA040.004 Blessed is that man that maketh the LORD his trust, and respecteth not the proud, nor such as turn aside to lies. %%% Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba. 19PSA040.005 Many, O LORD my God, are thy wonderful works which thou hast done, and thy thoughts which are to us-ward: they cannot be reckoned up in order unto thee: if I would declare and speak of them, they are more than can be numbered. %%% Ebikolwa eby'ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, N'ebirowoozo byo ebiri gye tuli: Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu; Singa mbadde njagala okubibuulira n'okubyogerako, Tebibalika obungi. 19PSA040.006 Sacrifice and offering thou didst not desire; mine ears hast thou opened: burnt offering and sin offering hast thou not required. %%% Ssaddaaka n'ebiweebwayo tobisanyukira; Amatu gange ogawulizza: Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala. 19PSA040.007 Then said I, Lo, I come: in the volume of the book it is written of me, %%% Ne ndyoka njogera nti Laba nzize; Mu muzingo ogw'ekitabo ekyampandiikwako: 19PSA040.008 I delight to do thy will, O my God: yea, thy law is within my heart. %%% Nsanyuka okukola by'oyagala, ai Katonda wange; Weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda. 19PSA040.009 I have preached righteousness in the great congregation: lo, I have not refrained my lips, O LORD, thou knowest. %%% Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene; Laba, ssiibunizenga mimwa gyange, Ai Mukama, ggwe omanyi. 19PSA040.010 I have not hid thy righteousness within my heart; I have declared thy faithfulness and thy salvation: I have not concealed thy lovingkindness and thy truth from the great congregation. %%% Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda; Mbuulidde obwesige bwo n'obulokozi bwo: Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene. 19PSA040.011 Withhold not thou thy tender mercies from me, O LORD: let thy lovingkindness and thy truth continually preserve me. %%% Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi: Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna. 19PSA040.012 For innumerable evils have compassed me about: mine iniquities have taken hold upon me, so that I am not able to look up; they are more than the hairs of mine head: therefore my heart faileth me. %%% Kubanga obubi obutabalika bunneetoolodde, Obutali butuukirivu bwange buntuuseeko n'okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu; Businga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese. 19PSA040.013 Be pleased, O LORD, to deliver me: O LORD, make haste to help me. %%% Kkiriza, ai Mukama, okumponya: Yanguwa okunnyamba, ai Mukama. 19PSA040.014 Let them be ashamed and confounded together that seek after my soul to destroy it; let them be driven backward and put to shame that wish me evil. %%% Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna wamu. Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza: Bazzibwe ennyuma banyoomebwe Abo abasanyukira nze okulaba akabi. 19PSA040.015 Let them be desolate for a reward of their shame that say unto me, Aha, aha. %%% Balekebwe olw'ensonyi zaabwe Abo abansooza. 19PSA040.016 Let all those that seek thee rejoice and be glad in thee: let such as love thy salvation say continually, The LORD be magnified. %%% Bonna abakunoonya bakusanyukire bajaguze: Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Mukama agulumizibwe. 19PSA040.017 But I am poor and needy; yet the Lord thinketh upon me: thou art my help and my deliverer; make no tarrying, O my God. %%% Naye nze ndi mwavu, neetaaga; Mukama andowooza: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Tolwawo, ai Katonda wange. 19PSA041.001 Blessed is he that considereth the poor: the LORD will deliver him in time of trouble. %%% Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu: Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi. 19PSA041.002 The LORD will preserve him, and keep him alive; and he shall be blessed upon the earth: and thou wilt not deliver him unto the will of his enemies. %%% Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi; So tomuwangayo eri abalabe be okumukola bye baagala. 19PSA041.003 The LORD will strengthen him upon the bed of languishing: thou wilt make all his bed in his sickness. %%% Mukama anaamujjanjabanga ng'ayongobera ku kitanda: Ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw'alwala. 19PSA041.004 I said, LORD, be merciful unto me: heal my soul; for I have sinned against thee. %%% Nayogera nti Ai Mukama, onsaasire: Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe. 19PSA041.005 Mine enemies speak evil of me, When shall he die, and his name perish? %%% Abalabe bange banjogerako obubi nti Alifa ddi, erinnya lye ne libula? 19PSA041.006 And if he come to see me, he speaketh vanity: his heart gathereth iniquity to itself; when he goeth abroad, he telleth it. %%% Era ne bw'ajja okundaba, ayogera ebitaliimu; Omutima gwe gwekuŋŋaanyiza obutali butuukirivu: Bw'ava mu nnyumba, abubuulira. 19PSA041.007 All that hate me whisper together against me: against me do they devise my hurt. %%% Bonna abankyawa bangeyera wamu: Bateesa ebigambo okunkola akabi. 19PSA041.008 An evil disease, say they, cleaveth fast unto him: and now that he lieth he shall rise up no more. %%% Boogera nti Endwadde embi emukutte: Kaakano bw'agalamidde, tagenda kugolokoka nate. 19PSA041.009 Yea, mine own familiar friend, in whom I trusted, which did eat of my bread, hath lifted up his heel against me. %%% Era ne munnange mukwano gwange nze, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, Ansitulidde ekisinziiro kye. 19PSA041.010 But thou, O LORD, be merciful unto me, and raise me up, that I may requite them. %%% Naye ggwe, ai Mukama, onsaasire, ongolokose, Ndyoke mbawalanire eggwanga. 19PSA041.011 By this I know that thou favourest me, because mine enemy doth not triumph over me. %%% Kyenvudde mmanya ng'onsanyukira, Kubanga omulabe wange tampangula. 19PSA041.012 And as for me, thou upholdest me in mine integrity, and settest me before thy face for ever. %%% Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange, Era onteeka mu maaso go ennaku zonna. 19PSA041.013 Blessed be the LORD God of Israel from everlasting, and to everlasting. Amen, and Amen. %%% Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina. 19PSA042.001 As the hart panteth after the water brooks, so panteth my soul after thee, O God. %%% Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, ai Katonda. 19PSA042.002 My soul thirsteth for God, for the living God: when shall I come and appear before God? %%% Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, ku lwa Katonda omulamu: Ndituuka ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda? 19PSA042.003 My tears have been my meat day and night, while they continually say unto me, Where is thy God? %%% Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, Bwe baŋŋamba obudde okuziba nti Katonda wo ali luda wa? 19PSA042.004 When I remember these things, I pour out my soul in me: for I had gone with the multitude, I went with them to the house of God, with the voice of joy and praise, with a multitude that kept holyday. %%% Bino mbijjukira, ne nfuuka emmeeme yange munda yange, Bwe nnagenda n'ekibiina, ne mbatwala mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza olunaku. 19PSA042.005 Why art thou cast down, O my soul? and why art thou disquieted in me? hope thou in God: for I shall yet praise him for the help of his countenance. %%% Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza Olw'obulamu obw'amaaso ge. 19PSA042.006 O my God, my soul is cast down within me: therefore will I remember thee from the land of Jordan, and of the Hermonites, from the hill Mizar. %%% Ai Katonda wange, emmeeme yange ekutamye munda yange: Kyenva nkujjuukirira mu nsi ya Yoludaani, Ne ku nsozi Kerumooni, ne ku kasozi Mizali, 19PSA042.007 Deep calleth unto deep at the noise of thy waterspouts: all thy waves and thy billows are gone over me. %%% Obuziba bukoowoola obuziba amazzi go ageefuukuula bwe gayira: Amayengo go gonna n'amasingiisira go gampiseeko. 19PSA042.008 Yet the LORD will command his lovingkindness in the day time, and in the night his song shall be with me, and my prayer unto the God of my life. %%% Naye Mukama anaalagiranga ekisa kyo emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange. Kwe kusaba Katonda ow'obulamu bwange. 19PSA042.009 I will say unto God my rock, Why hast thou forgotten me? why go I mourning because of the oppression of the enemy? %%% Ndigamba Katonda olwazi lwange nti Kiki ekikunneerabizza? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe? 19PSA042.010 As with a sword in my bones, mine enemies reproach me; while they say daily unto me, Where is thy God? %%% Ng'ekitala mu magumba gange, abalabe bange banvuma; Nga baŋŋamba obutayosa nti Katonda wo ali ludda wa? 19PSA042.011 Why art thou cast down, O my soul? and why art thou disquieted within me? hope thou in God: for I shall yet praise him, who is the health of my countenance, and my God. %%% Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange. 19PSA043.001 Judge me, O God, and plead my cause against an ungodly nation: O deliver me from the deceitful and unjust man. %%% Onsalire omusango, ai Katonda, era ompolereze ensonga eri eggwanga eritatya Katonda: Ondokole eri omuntu ow'obulimba atali mutuukirivu. 19PSA043.002 For thou art the God of my strength: why dost thou cast me off? why go I mourning because of the oppression of the enemy? %%% Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe? 19PSA043.003 O send out thy light and thy truth: let them lead me; let them bring me unto thy holy hill, and to thy tabernacles. %%% Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye: Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo. 19PSA043.004 Then will I go unto the altar of God, unto God my exceeding joy: yea, upon the harp will I praise thee, O God my God. %%% Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, ai Katonda, Katonda wange. 19PSA043.005 Why art thou cast down, O my soul? and why art thou disquieted within me? hope in God: for I shall yet praise him, who is the health of my countenance, and my God. %%% Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange; era Katonda wange. 19PSA044.001 We have heard with our ears, O God, our fathers have told us, what work thou didst in their days, in the times of old. %%% Twawuliranga n'amatu gaffe; ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda. 19PSA044.002 How thou didst drive out the heathen with thy hand, and plantedst them; how thou didst afflict the people, and cast them out. %%% Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo; Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala. 19PSA044.003 For they got not the land in possession by their own sword, neither did their own arm save them: but thy right hand, and thine arm, and the light of thy countenance, because thou hadst a favour unto them. %%% Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola: Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, Kubanga baalaba ekisa eri ggwe. 19PSA044.004 Thou art my King, O God: command deliverances for Jacob. %%% Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda: Lagira obulokozi eri Yakobo. 19PSA044.005 Through thee will we push down our enemies: through thy name will we tread them under that rise up against us. %%% Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi: Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe. 19PSA044.006 For I will not trust in my bow, neither shall my sword save me. %%% Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola. 19PSA044.007 But thou hast saved us from our enemies, and hast put them to shame that hated us. %%% Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa. 19PSA044.008 In God we boast all the day long, and praise thy name for ever. Selah. %%% Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera) 19PSA044.009 But thou hast cast off, and put us to shame; and goest not forth with our armies. %%% Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So totabaala n'eggye lyaffe. 19PSA044.010 Thou makest us to turn back from the enemy: and they which hate us spoil for themselves. %%% Otuzza nnyuma eri abalabe: N'abo abatukyawa beenyagira. 19PSA044.011 Thou hast given us like sheep appointed for meat; and hast scattered us among the heathen. %%% Watuwaayo ng'endiga okuba ennyama; Watusaasaanya mu mawanga. 19PSA044.012 Thou sellest thy people for nought, and dost not increase thy wealth by their price. %%% Abantu bo obatundira bwereere, So n'omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo. 19PSA044.013 Thou makest us a reproach to our neighbours, a scorn and a derision to them that are round about us. %%% Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde. 19PSA044.014 Thou makest us a byword among the heathen, a shaking of the head among the people. %%% Otufuula olugero mu mawanga, Okunyeenyezebwa kw'omutwe mu bantu. 19PSA044.015 My confusion is continually before me, and the shame of my face hath covered me, %%% Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde, N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde, 19PSA044.016 For the voice of him that reproacheth and blasphemeth; by reason of the enemy and avenger. %%% Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma; Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga. 19PSA044.017 All this is come upon us; yet have we not forgotten thee, neither have we dealt falsely in thy covenant. %%% Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo. 19PSA044.018 Our heart is not turned back, neither have our steps declined from thy way; %%% Omutima gwaffe teguzze nnyuma, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo; 19PSA044.019 Though thou hast sore broken us in the place of dragons, and covered us with the shadow of death. %%% Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky'ebibe, N'otusaanikiza ekisiikirize eky'okufa. 19PSA044.020 If we have forgotten the name of our God, or stretched out our hands to a strange god; %%% Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe, Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya, 19PSA044.021 Shall not God search this out? for he knoweth the secrets of the heart. %%% Ekyo Katonda talikikenneenya? Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi. 19PSA044.022 Yea, for thy sake are we killed all the day long; we are counted as sheep for the slaughter. %%% Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa. 19PSA044.023 Awake, why sleepest thou, O Lord? arise, cast us not off for ever. %%% Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna. 19PSA044.024 Wherefore hidest thou thy face, and forgettest our affliction and our oppression? %%% Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira? 19PSA044.025 For our soul is bowed down to the dust: our belly cleaveth unto the earth. %%% Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu: Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka. 19PSA044.026 Arise for our help, and redeem us for thy mercies' sake. %%% Golokoka okutuyamba, Otununule olw'ekisa kyo. 19PSA045.001 My heart is inditing a good matter: I speak of the things which I have made touching the king: my tongue is the pen of a ready writer. %%% Omutima gwange gujjudde musera ekigambo ekirungi: Njogera ebigambo bye mpandiise bya kabaka: Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu. 19PSA045.002 Thou art fairer than the children of men: grace is poured into thy lips: therefore God hath blessed thee for ever. %%% Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo: Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna. 19PSA045.003 Gird thy sword upon thy thigh, O most mighty, with thy glory and thy majesty. %%% Weesibe ekitala kyo mu kiwato kyo, ggwe ow'amaanyi. Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo. 19PSA045.004 And in thy majesty ride prosperously because of truth and meekness and righteousness; and thy right hand shall teach thee terrible things. %%% Ne mu bukulu bwo weebagale owangule, Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu: N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa. 19PSA045.005 Thine arrows are sharp in the heart of the king's enemies; whereby the people fall under thee. %%% Obusaale bwo bwa bwogi; Amawanga gagwa wansi mu maaso go; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka. 19PSA045.006 Thy throne, O God, is for ever and ever: the sceptre of thy kingdom is a right sceptre. %%% Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna: Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo. 19PSA045.007 Thou lovest righteousness, and hatest wickedness: therefore God, thy God, hath anointed thee with the oil of gladness above thy fellows. %%% Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno. 19PSA045.008 All thy garments smell of myrrh, and aloes, and cassia, out of the ivory palaces, whereby they have made thee glad. %%% Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa mooli ne akaloosi ne kasiya; Mu mayumba ag'amasanga ennanga zikusanyusizza. 19PSA045.009 Kings' daughters were among thy honourable women: upon thy right hand did stand the queen in gold of Ophir. %%% Mu bakyala bo mulimu abambejja: Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri. 19PSA045.010 Hearken, O daughter, and consider, and incline thine ear; forget also thine own people, and thy father's house; %%% Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo; Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo; 19PSA045.011 So shall the king greatly desire thy beauty: for he is thy Lord; and worship thou him. %%% Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo: Kubanga ye Mukama wo; era omusinze. 19PSA045.012 And the daughter of Tyre shall be there with a gift; even the rich among the people shall intreat thy favour. %%% N'omuwala wa Ttuulo alijja n'ekirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu balikwegayirira ekisa kyo. 19PSA045.013 The king's daughter is all glorious within: her clothing is of wrought gold. %%% Omuwala wa kabaka munda mu lubiri wa kitiibwa kyereere: Olugoye lwe lukoleddwamu ne zaabu. 19PSA045.014 She shall be brought unto the king in raiment of needlework: the virgins her companions that follow her shall be brought unto thee. %%% Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde eby'amabala: Bawala banne abamugoberera Banaaleetebwa gy'oli. 19PSA045.015 With gladness and rejoicing shall they be brought: they shall enter into the king's palace. %%% Banaaleetebwa n'okusanyuka n'okujaguza: Banaayingira mu nnyumba ya kabaka. 19PSA045.016 Instead of thy fathers shall be thy children, whom thou mayest make princes in all the earth. %%% Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna. 19PSA045.017 I will make thy name to be remembered in all generations: therefore shall the people praise thee for ever and ever. %%% Najjukizanga erinnya lyo emirembe gyonna: Amawanga kyeganaavanga kwebaza emirembe n'emirembe. 19PSA046.001 God is our refuge and strength, a very present help in trouble. %%% Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku. 19PSA046.002 Therefore will not we fear, though the earth be removed, and though the mountains be carried into the midst of the sea; %%% Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja; 19PSA046.003 Though the waters thereof roar and be troubled, though the mountains shake with the swelling thereof. Selah. %%% Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo. (Seera) 19PSA046.004 There is a river, the streams whereof shall make glad the city of God, the holy place of the tabernacles of the most High. %%% Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo. 19PSA046.005 God is in the midst of her; she shall not be moved: God shall help her, and that right early. %%% Katonda ali wakati waakyo; tekiisagaasaganenga: Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu. 19PSA046.006 The heathen raged, the kingdoms were moved: he uttered his voice, the earth melted. %%% Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula: Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka. 19PSA046.007 The LORD of hosts is with us; the God of Jacob is our refuge. Selah. %%% Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera) 19PSA046.008 Come, behold the works of the LORD, what desolations he hath made in the earth. %%% Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama, Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi. 19PSA046.009 He maketh wars to cease unto the end of the earth; he breaketh the bow, and cutteth the spear in sunder; he burneth the chariot in the fire. %%% Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro. 19PSA046.010 Be still, and know that I am God: I will be exalted among the heathen, I will be exalted in the earth. %%% Musirike mumanye nga nze Katonda: Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi. 19PSA046.011 The LORD of hosts is with us; the God of Jacob is our refuge. Selah. %%% Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera) 19PSA047.001 O clap your hands, all ye people; shout unto God with the voice of triumph. %%% Mukale mukube mu ngalo, mmwe amawanga gonna; Mwogerere waggulu eri Katonda n'eddoboozi ery'okuwangula. 19PSA047.002 For the LORD most high is terrible; he is a great King over all the earth. %%% Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa: Ye kabaka omukulu: afuga ensi zonna. 19PSA047.003 He shall subdue the people under us, and the nations under our feet. %%% Alijeemula abantu ne tubafuga, N'amawanga aligassa wansi w'ebigere byaffe. 19PSA047.004 He shall choose our inheritance for us, the excellency of Jacob whom he loved. Selah. %%% Alitulondera obusika bwaffe, Okuwooma kwa Yakobo gwe yayagala. (Seera) 19PSA047.005 God is gone up with a shout, the LORD with the sound of a trumpet. %%% Katonda alinaye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe. 19PSA047.006 Sing praises to God, sing praises: sing praises unto our King, sing praises. %%% Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza; Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza: 19PSA047.007 For God is the King of all the earth: sing ye praises with understanding. %%% Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna: Muyimbe okumutendereza n'amagezi. 19PSA047.008 God reigneth over the heathen: God sitteth upon the throne of his holiness. %%% Katonda afuga amawanga: Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu. 19PSA047.009 The princes of the people are gathered together, even the people of the God of Abraham: for the shields of the earth belong unto God: he is greatly exalted. %%% Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye. Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu: Kubanga engabo ez'ensi za Katonda; Agulumizibwa nnyo. 19PSA048.001 Great is the LORD, and greatly to be praised in the city of our God, in the mountain of his holiness. %%% Mukama mukulu, agwanira okutenderezebwa ennyo, Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu. 19PSA048.002 Beautiful for situation, the joy of the whole earth, is mount Zion, on the sides of the north, the city of the great King. %%% Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiika obwa kkono, Ekibuga kya kabaka omukulu. 19PSA048.003 God is known in her palaces for a refuge. %%% Katonda yeetegeezezza mu mayumba gaakyo nga kye kiddukiro. 19PSA048.004 For, lo, the kings were assembled, they passed by together. %%% Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana, Ne bayitamu wamu. 19PSA048.005 They saw it, and so they marvelled; they were troubled, and hasted away. %%% Ne bakiraba, ne balyoka beewuunya; Ne batya, ne baanguwa okugenda. 19PSA048.006 Fear took hold upon them there, and pain, as of a woman in travail. %%% Ensisi n'ebakwatira omwo; N'okulumwa, ng'omukazi azaala. 19PSA048.007 Thou breakest the ships of Tarshish with an east wind. %%% Omuyaga oguva ebuvanjuba Ogumenyesa amaato ag'e Talusiisi. 19PSA048.008 As we have heard, so have we seen in the city of the LORD of hosts, in the city of our God: God will establish it for ever. Selah. %%% Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo mu kibuga kya Mukama w'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe: Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera) 19PSA048.009 We have thought of thy lovingkindness, O God, in the midst of thy temple. %%% Twajjuukirira ekisa kyo, ai Katonda, Wakati mu yeekaalu yo. 19PSA048.010 According to thy name, O God, so is thy praise unto the ends of the earth: thy right hand is full of righteousness. %%% Ng'erinnya lyo bwe liri, ai Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi: Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu. 19PSA048.011 Let mount Zion rejoice, let the daughters of Judah be glad, because of thy judgments. %%% Olusozi Sayuuni lusanyuke, Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo. 19PSA048.012 Walk about Zion, and go round about her: tell the towers thereof. %%% Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye: Mubale ebigo byakyo. 19PSA048.013 Mark ye well her bulwarks, consider her palaces; that ye may tell it to the generation following. %%% Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja. 19PSA048.014 For this God is our God for ever and ever: he will be our guide even unto death. %%% Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe: Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa. 19PSA049.001 Hear this, all ye people; give ear, all ye inhabitants of the world: %%% Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi: 19PSA049.002 Both low and high, rich and poor, together. %%% Abakopi era n'abakulu, Abagagga n'abaavu awamu. 19PSA049.003 My mouth shall speak of wisdom; and the meditation of my heart shall be of understanding. %%% Akamwa kange kanaayogera amagezi; N'omutima gwange gunaalowooza eby'okumanya. 19PSA049.004 I will incline mine ear to a parable: I will open my dark saying upon the harp. %%% Okutu kwange naakutegera olugero: Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga. 19PSA049.005 Wherefore should I fear in the days of evil, when the iniquity of my heels shall compass me about? %%% Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange? 19PSA049.006 They that trust in their wealth, and boast themselves in the multitude of their riches; %%% Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi; 19PSA049.007 None of them can by any means redeem his brother, nor give to God a ransom for him: %%% Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe: 19PSA049.008 (For the redemption of their soul is precious, and it ceaseth for ever:) %%% (Kubanga ekinunulo eky'emmeeme yaabwe kizibu, Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:) 19PSA049.009 That he should still live for ever, and not see corruption. %%% Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Alemenga okulaba okuvunda, 19PSA049.010 For he seeth that wise men die, likewise the fool and the brutish person perish, and leave their wealth to others. %%% Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala: 19PSA049.011 Their inward thought is, that their houses shall continue for ever, and their dwelling places to all generations; they call their lands after their own names. %%% lowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna, Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo. 19PSA049.012 Nevertheless man being in honour abideth not: he is like the beasts that perish. %%% Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa: Ali ng'ensolo ezizikirira. 19PSA049.013 This their way is their folly: yet their posterity approve their sayings. Selah. %%% Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe: Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera) 19PSA049.014 Like sheep they are laid in the grave; death shall feed on them; and the upright shall have dominion over them in the morning; and their beauty shall consume in the grave from their dwelling. %%% Bateekerwawo magombe ng'ekisibo; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe: Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu. 19PSA049.015 But God will redeem my soul from the power of the grave: for he shall receive me. Selah. %%% Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alinzikiriza. (Seera) 19PSA049.016 Be not thou afraid when one is made rich, when the glory of his house is increased; %%% Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera: 19PSA049.017 For when he dieth he shall carry nothing away: his glory shall not descend after him. %%% Kubanga bw'alifa talitwala kintu: Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera: 19PSA049.018 Though while he lived he blessed his soul: and men will praise thee, when thou doest well to thyself. %%% Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi, 19PSA049.019 He shall go to the generation of his fathers; they shall never see light. %%% Alikka mu mirembe gya bajjajja be; Tebaliraba musana nate. 19PSA049.020 Man that is in honour, and understandeth not, is like the beasts that perish. %%% Omuntu alina ekitiibwa n’atategeera, Ali ng'ensolo ezizikirira. 19PSA050.001 The mighty God, even the LORD, hath spoken, and called the earth from the rising of the sun unto the going down thereof. %%% Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasizza. 19PSA050.002 Out of Zion, the perfection of beauty, God hath shined. %%% Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza. 19PSA050.003 Our God shall come, and shall not keep silence: a fire shall devour before him, and it shall be very tempestuous round about him. %%% Katonda waffe alijja, so talisirika; Omuliro gulirya mu maaso ge, Omuyaga omungi gulimwetooloola. 19PSA050.004 He shall call to the heavens from above, and to the earth, that he may judge his people. %%% Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango: 19PSA050.005 Gather my saints together unto me; those that have made a covenant with me by sacrifice. %%% Mukuaanye abatukuvu bange awamu we ndi; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka. 19PSA050.006 And the heavens shall declare his righteousness: for God is judge himself. Selah. %%% N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini. (Seera) 19PSA050.007 Hear, O my people, and I will speak; O Israel, and I will testify against thee: I am God, even thy God. %%% Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange naakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo. 19PSA050.008 I will not reprove thee for thy sacrifices or thy burnt offerings, to have been continually before me. %%% Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo. 19PSA050.009 I will take no bullock out of thy house, nor he goats out of thy folds. %%% Siriggya seddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo. 19PSA050.010 For every beast of the forest is mine, and the cattle upon a thousand hills. %%% Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ez'oku nsozi lukumi. 19PSA050.011 I know all the fowls of the mountains: and the wild beasts of the field are mine. %%% Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi: N'ensolo ez'omu nsiko zange. 19PSA050.012 If I were hungry, I would not tell thee: for the world is mine, and the fulness thereof. %%% Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde: Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo. 19PSA050.013 Will I eat the flesh of bulls, or drink the blood of goats? %%% Nze naalyanga ennyama eya seddume, Oba naanywanga omusaayi gw'embuzi? 19PSA050.014 Offer unto God thanksgiving; and pay thy vows unto the most High: %%% Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo: 19PSA050.015 And call upon me in the day of trouble: I will deliver thee, and thou shalt glorify me. %%% Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze! 19PSA050.016 But unto the wicked God saith, What hast thou to do to declare my statutes, or that thou shouldest take my covenant in thy mouth? %%% Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka gange, N'oyingiza endagaano yange mu kamwa ko? 19PSA050.017 Seeing thou hatest instruction, and casteth my words behind thee. %%% Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula ennyuma wo. 19PSA050.018 When thou sawest a thief, then thou consentedst with him, and hast been partaker with adulterers. %%% Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi. 19PSA050.019 Thou givest thy mouth to evil, and thy tongue frameth deceit. %%% Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lukola eby'obulimba. 19PSA050.020 Thou sittest and speakest against thy brother; thou slanderest thine own mother's son. %%% Otuula ng'ovuma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko. 19PSA050.021 These things hast thou done, and I kept silence; thou thoughtest that I was altogether such an one as thyself: but I will reprove thee, and set them in order before thine eyes. %%% Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go. 19PSA050.022 Now consider this, ye that forget God, lest I tear you in pieces, and there be none to deliver. %%% Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya: 19PSA050.023 Whoso offereth praise glorifieth me: and to him that ordereth his conversation aright will I shew the salvation of God. %%% Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda. 19PSA051.001 Have mercy upon me, O God, according to thy lovingkindness: according unto the multitude of thy tender mercies blot out my transgressions. %%% Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo; Mu bungi obw'okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna. 19PSA051.002 Wash me throughly from mine iniquity, and cleanse me from my sin. %%% Onnaalize ddala mu bubi bwange, Onnongoose mu kwonoona kwange. 19PSA051.003 For I acknowledge my transgressions: and my sin is ever before me. %%% Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso go bulijjo. 19PSA051.004 Against thee, thee only, have I sinned, and done this evil in thy sight: that thou mightest be justified when thou speakest, and be clear when thou judgest. %%% Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala. 19PSA051.005 Behold, I was shapen in iniquity; and in sin did my mother conceive me. %%% Laba, nze natondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira. 19PSA051.006 Behold, thou desirest truth in the inward parts: and in the hidden part thou shalt make me to know wisdom. %%% Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima; Era mu mwoyo ogutalabika onommanyisa amagezi. 19PSA051.007 Purge me with hyssop, and I shall be clean: wash me, and I shall be whiter than snow. %%% Ontukuze n'ezoobu, nange naaba mulungi: Onnaaze, nange naaba mutukuvu okusinga omuzira. 19PSA051.008 Make me to hear joy and gladness; that the bones which thou hast broken may rejoice. %%% Ompulize essanyu n'okwesiima; Amagumba ge wamenya gasanyuke. 19PSA051.009 Hide thy face from my sins, and blot out all mine iniquities. %%% Okise amaaso go mu bibi byange, Osangule ebyonoono byange byonna. 19PSA051.010 Create in me a clean heart, O God; and renew a right spirit within me. %%% Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi munda yange. 19PSA051.011 Cast me not away from thy presence; and take not thy holy spirit from me. %%% Tongoba w'oli; So tonziyaako omwoyo gwo omutukuvu. 19PSA051.012 Restore unto me the joy of thy salvation; and uphold me with thy free spirit. %%% Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo: Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe. 19PSA051.013 Then will I teach transgressors thy ways; and sinners shall be converted unto thee. %%% Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi; N'abalina ebibi balikyukira gy'oli. 19PSA051.014 Deliver me from bloodguiltiness, O God, thou God of my salvation: and my tongue shall sing aloud of thy righteousness. %%% Omponye mu musango gw'omusaayi, ai Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange; 19PSA051.015 O Lord, open thou my lips; and my mouth shall shew forth thy praise. %%% Ai Mukama, yasamya emimwa gyange; N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo 19PSA051.016 For thou desirest not sacrifice; else would I give it: thou delightest not in burnt offering. %%% Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naakukuwadde; Ebiweebwayo ebyokebwa tebikuwoomera. 19PSA051.017 The sacrifices of God are a broken spirit: a broken and a contrite heart, O God, thou wilt not despise. %%% Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga. 19PSA051.018 Do good in thy good pleasure unto Zion: build thou the walls of Jerusalem. %%% Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala: Okolere Yerusaalemi bbugwe. 19PSA051.019 Then shalt thou be pleased with the sacrifices of righteousness, with burnt offering and whole burnt offering: then shall they offer bullocks upon thine altar. %%% N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba: Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo. 19PSA052.001 Why boastest thou thyself in mischief, O mighty man? the goodness of God endureth continually. %%% Lwaki okwenyumiriza mu ttima, ggwe omuzira? Okusaasira kwa Katonda kwa lubeerera. 19PSA052.002 Thy tongue deviseth mischiefs; like a sharp razor, working deceitfully. %%% Olulimi lwo luteesa eby'obubi obwereere; Ng'akamwano ak'obwogi, lukola n'obulimba. 19PSA052.003 Thou lovest evil more than good; and lying rather than to speak righteousness. Selah. %%% Oyagala ebibi okusinga ebirungi, N'okulimba okusinga okwatula amazima. (Seera) 19PSA052.004 Thou lovest all devouring words, O thou deceitful tongue. %%% Oyagala ebigambo byonna ebiruma, Ggwe olulimi olw'obulimba. 19PSA052.005 God shall likewise destroy thee for ever, he shall take thee away, and pluck thee out of thy dwelling place, and root thee out of the land of the living. Selah. %%% Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. (Seera) 19PSA052.006 The righteous also shall see, and fear, and shall laugh at him: %%% Era n'abatuukirivu baliraba, balitya, Balimusekerera, nga boogera nti 19PSA052.007 Lo, this is the man that made not God his strength; but trusted in the abundance of his riches, and strengthened himself in his wickedness. %%% Laba, ye wuuyo ataafuula Katonda maanyi ge; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Ne yeenyweza mu bubi bwe. 19PSA052.008 But I am like a green olive tree in the house of God: I trust in the mercy of God for ever and ever. %%% Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni oguloka ennyo mu nnyumba ya Katonda: Neesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe. 19PSA052.009 I will praise thee for ever, because thou hast done it: and I will wait on thy name; for it is good before thy saints. %%% Naakwebazanga ennaku zonna, kubanga ggwe wakola bw'otyo : Era naalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo. 19PSA053.001 The fool hath said in his heart, There is no God. Corrupt are they, and have done abominable iniquity: there is none that doeth good. %%% Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti Tewali Katonda. Bavunze, bakoze obubi obw'omuzizo; Tewali akola bulungi. 19PSA053.002 God looked down from heaven upon the children of men, to see if there were any that did understand, that did seek God. %%% Katonda yatunula ku baana b'abantu ng'ayima mu ggulu, Alabe nga waliwo abategeera, Abanoonya Katonda. 19PSA053.003 Every one of them is gone back: they are altogether become filthy; there is none that doeth good, no, not one. %%% Buli muntu mu abo azze ennyuma; bonna bagwagwawadde wamu; Tewali akola bulungi, tewali n'omu. 19PSA053.004 Have the workers of iniquity no knowledge? who eat up my people as they eat bread: they have not called upon God. %%% Abakola obubi tebalina magezi? Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere, Ne batakaabira Katonda. 19PSA053.005 There were they in great fear, where no fear was: for God hath scattered the bones of him that encampeth against thee: thou hast put them to shame, because God hath despised them. %%% Awatali kya kutya we batiira ennyo: Kubanga Katonda asaasaanyizza amagumba g'oyo akukolako olusiisira; Obakwasizza ensonyi, kubanga Katonda yabagoba. 19PSA053.006 Oh that the salvation of Israel were come out of Zion! When God bringeth back the captivity of his people, Jacob shall rejoice, and Israel shall be glad. %%% Singa obulokovu bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni! Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza. 19PSA054.001 Save me, O God, by thy name, and judge me by thy strength. %%% Ndokola, ai Katonda, n'erinnya lyo, Onsalire omusango mu maanyi go. 19PSA054.002 Hear my prayer, O God; give ear to the words of my mouth. %%% Wulira okusaba kwange, ai Katonda; Otege okutu eri ebigambo eby'akamwa kange. 19PSA054.003 For strangers are risen up against me, and oppressors seek after my soul: they have not set God before them. Selah. %%% Kubanga bannaggwanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange: Tebateese Katonda mu maaso gaabwe. (Seera) 19PSA054.004 Behold, God is mine helper: the Lord is with them that uphold my soul. %%% Laba, Katonda ye mubeezi wange: Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange. 19PSA054.005 He shall reward evil unto mine enemies: cut them off in thy truth. %%% Aliwalana obubi obwo ku balabe bange: Obazikirize mu mazima go. 19PSA054.006 I will freely sacrifice unto thee: I will praise thy name, O LORD; for it is good. %%% Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe: Neebazanga erinnya lyo, ai Mukama, kubanga ddungi. 19PSA054.007 For he hath delivered me out of all trouble: and mine eye hath seen his desire upon mine enemies. %%% Kubanga anziye mu kweraliikirira kwonna; N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange. 19PSA055.001 Give ear to my prayer, O God; and hide not thyself from my supplication. %%% Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda; So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange. 19PSA055.002 Attend unto me, and hear me: I mourn in my complaint, and make a noise; %%% Mpulira, onziremu: Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda; 19PSA055.003 Because of the voice of the enemy, because of the oppression of the wicked: for they cast iniquity upon me, and in wrath they hate me. %%% Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bansuulako ebikolwa ebibi, Era banjigganya mu busungu. 19PSA055.004 My heart is sore pained within me: and the terrors of death are fallen upon me. %%% Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko. 19PSA055.005 Fearfulness and trembling are come upon me, and horror hath overwhelmed me. %%% Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye. 19PSA055.006 And I said, Oh that I had wings like a dove! for then would I fly away, and be at rest. %%% Ne njogera nti Singa mbadde n’ebiwaawaatiro ng'ejjiba Nandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula. 19PSA055.007 Lo, then would I wander far off, and remain in the wilderness. Selah. %%% Laba, nandikyamidde wala, Nandisuze mu ddungu. (Seera) 19PSA055.008 I would hasten my escape from the windy storm and tempest. %%% Nandyanguye okudduka mu kiddukiro Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi. 19PSA055.009 Destroy, O Lord, and divide their tongues: for I have seen violence and strife in the city. %%% Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe: Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga. 19PSA055.010 Day and night they go about it upon the walls thereof: mischief also and sorrow are in the midst of it. %%% Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo: Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo. 19PSA055.011 Wickedness is in the midst thereof: deceit and guile depart not from her streets. %%% Okwonoona kuli wakati mu kyo: Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo. 19PSA055.012 For it was not an enemy that reproached me; then I could have borne it: neither was it he that hated me that did magnify himself against me; then I would have hid myself from him: %%% Kubanga omulabe si ye yanvuma; Nandiyinzizza okugumiikiriza: So si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako; Nandyekwese mu maaso ge: 19PSA055.013 But it was thou, a man mine equal, my guide, and mine acquaintance. %%% Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambula nange, mukwano gwange gwe namanyiira ennyo. 19PSA055.014 We took sweet counsel together, and walked unto the house of God in company. %%% Twateesanga ebigambo n'essanyu fembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina. 19PSA055.015 Let death seize upon them, and let them go down quick into hell: for wickedness is in their dwellings, and among them. %%% Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu: Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati. 19PSA055.016 As for me, I will call upon God; and the LORD shall save me. %%% Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga. 19PSA055.017 Evening, and morning, and at noon, will I pray, and cry aloud: and he shall hear my voice. %%% Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: Naye anaawuliranga eddoboozi lyange. 19PSA055.018 He hath delivered my soul in peace from the battle that was against me: for there were many with me. %%% Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi. 19PSA055.019 God shall hear, and afflict them, even he that abideth of old. Selah. Because they have no changes, therefore they fear not God. %%% Katonda aliwulira, alibaddamu, ye oyo abeerera edda n'edda lyonna, (Seera) Alibaddamu abo abatalaba biggya, Abatatya Katonda. 19PSA055.020 He hath put forth his hands against such as be at peace with him: he hath broken his covenant. %%% Yagolola emikono gye ku abo abaali batabaganye naye: Yanyooma endagaano ye. 19PSA055.021 The words of his mouth were smoother than butter, but war was in his heart: his words were softer than oil, yet were they drawn swords. %%% Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo, Naye omutima gwe kulwana: Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, Naye byali bitala ebisowoddwamu. 19PSA055.022 Cast thy burden upon the LORD, and he shall sustain thee: he shall never suffer the righteous to be moved. %%% Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna. 19PSA055.023 But thou, O God, shalt bring them down into the pit of destruction: bloody and deceitful men shall not live out half their days; but I will trust in thee. %%% Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira: Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe; Naye nze neesiganga ggwe. 19PSA056.001 Be merciful unto me, O God: for man would swallow me up; he fighting daily oppresseth me. %%% Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze: Bazibya obudde nga balwana nga banjooga. 19PSA056.002 Mine enemies would daily swallow me up: for they be many that fight against me, O thou most High. %%% Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: Kubanga abalwana nange n'amalala bangi. 19PSA056.003 What time I am afraid, I will trust in thee. %%% Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe. 19PSA056.004 In God I will praise his word, in God I have put my trust; I will not fear what flesh can do unto me. %%% Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki? 19PSA056.005 Every day they wrest my words: all their thoughts are against me for evil. %%% Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde: Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw'obubi. 19PSA056.006 They gather themselves together, they hide themselves, they mark my steps, when they wait for my soul. %%% Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange. 19PSA056.007 Shall they escape by iniquity? in thine anger cast down the people, O God. %%% Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu suula amawanga, ai Katonda. 19PSA056.008 Thou tellest my wanderings: put thou my tears into thy bottle: are they not in thy book? %%% Ggwe obala okutambulatambula kwange: Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko; Tegawandiikibwa mu kitabo kyo? 19PSA056.009 When I cry unto thee, then shall mine enemies turn back: this I know; for God is for me. %%% Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange. 19PSA056.010 In God will I praise his word: in the LORD will I praise his word. %%% Mu Katonda nditendereza ekigambo kye: Mu Mukama nditendereza ekigambo kye. 19PSA056.011 In God have I put my trust: I will not be afraid what man can do unto me. %%% Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki? 19PSA056.012 Thy vows are upon me, O God: I will render praises unto thee. %%% Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda: Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza eri ggwe. 19PSA056.013 For thou hast delivered my soul from death: wilt not thou deliver my feet from falling, that I may walk before God in the light of the living? %%% Kubanga wawonya emmeeme yange okufa: Tewawonya bigere byange okwesittala? Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda mu musana ogw'abantu abalamu. 19PSA057.001 Be merciful unto me, O God, be merciful unto me: for my soul trusteth in thee: yea, in the shadow of thy wings will I make my refuge, until these calamities be overpast. %%% Onsaasire, ai Katonda, onsaasire; Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe: Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga, Okutuusa ebibonoobono ebyo lwe biriggwaawo. 19PSA057.002 I will cry unto God most high; unto God that performeth all things for me. %%% Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo; Katonda ankolera byonna. 19PSA057.003 He shall send from heaven, and save me from the reproach of him that would swallow me up. Selah. God shall send forth his mercy and his truth. %%% Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Oyo ayagala okummira bw'anvuma; (Seera) Katoada alituma okusaasira kwe n'amazima ge. 19PSA057.004 My soul is among lions: and I lie even among them that are set on fire, even the sons of men, whose teeth are spears and arrows, and their tongue a sharp sword. %%% Emmeeme yange eri mu mpologoma; Ngalamidde mu abo abaaka n'omuliro, Be baana b'abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale, N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi: 19PSA057.005 Be thou exalted, O God, above the heavens; let thy glory be above all the earth. %%% Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna. 19PSA057.006 They have prepared a net for my steps; my soul is bowed down: they have digged a pit before me, into the midst whereof they are fallen themselves. Selah. %%% Bateekeddeteekedde akatimba ebigere byange; Emmeeme yange ekutamye: Bansimidde obunnya mu kkubo lyange; Babuguddemu wakati bo bennyini. (Seera) 19PSA057.007 My heart is fixed, O God, my heart is fixed: I will sing and give praise. %%% Omutima gwange gunywedde, ai Katonda, omutima gwange gunywedde: Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza. 19PSA057.008 Awake up, my glory; awake, psaltery and harp: I myself will awake early. %%% Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n'ennanga: Nze nzekka naazuukuka enkya mu matulutulu. 19PSA057.009 I will praise thee, O Lord, among the people: I will sing unto thee among the nations. %%% Ndikwebaliza ggwe, ai Mukama, mu bantu: Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga. 19PSA057.010 For thy mercy is great unto the heavens, and thy truth unto the clouds. %%% Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu, N'amazima go gatuuka mu bbanga. 19PSA057.011 Be thou exalted, O God, above the heavens: let thy glory be above all the earth. %%% Bakugulumize, ai Katonda, Okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna. 19PSA058.001 Do ye indeed speak righteousness, O congregation? do ye judge uprightly, O ye sons of men? %%% Okwogera mwogera eby'obutuukirivu nga musirika? Musala omusango ogw'amazima, mmwe abaana ba bantu? 19PSA058.002 Yea, in heart ye work wickedness; ye weigh the violence of your hands in the earth. %%% Naye mu mitima gyammwe mukola eby'obubi; Ettima ery'emikono gyammwe gwe musango gwe musala mu nsi. 19PSA058.003 The wicked are estranged from the womb: they go astray as soon as they be born, speaking lies. %%% Ababi bakyama okuva mu lubuto: Bwe bazaalibwa, amangu ago ne beekooloobya, nga boogera eby'obulimba. 19PSA058.004 Their poison is like the poison of a serpent: they are like the deaf adder that stoppeth her ear; %%% Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota: Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo; 19PSA058.005 Which will not hearken to the voice of charmers, charming never so wisely. %%% Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya. 19PSA058.006 Break their teeth, O God, in their mouth: break out the great teeth of the young lions, O LORD. %%% Ai Katonda, omenye amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe: Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, ai Mukama. 19PSA058.007 Let them melt away as waters which run continually: when he bendeth his bow to shoot his arrows, let them be as cut in pieces. %%% Basaanuuke ng'amazzi agakulukuta amangu: Bw'ateeba n'obusaale bwe, babe nga bazikirizibwa. 19PSA058.008 As a snail which melteth, let every one of them pass away: like the untimely birth of a woman, that they may not see the sun. %%% Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo: Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana. 19PSA058.009 Before your pots can feel the thorns, he shall take them away as with a whirlwind, both living, and in his wrath. %%% Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Aligaggirawo ddala n'embuyaga, amabisi n'ago agaaka gonna. 19PSA058.010 The righteous shall rejoice when he seeth the vengeance: he shall wash his feet in the blood of the wicked. %%% Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo: Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi. 19PSA058.011 So that a man shall say, Verily there is a reward for the righteous: verily he is a God that judgeth in the earth. %%% Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa: Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi. 19PSA059.001 Deliver me from mine enemies, O my God: defend me from them that rise up against me. %%% Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange: Ongulumize eri abo abangolokokerako. 19PSA059.002 Deliver me from the workers of iniquity, and save me from bloody men. %%% Ondokole eri abo abakola obutali butuukirivu, Omponye eri abo abaagala omusaayi. 19PSA059.003 For, lo, they lie in wait for my soul: the mighty are gathered against me; not for my transgression, nor for my sin, O LORD. %%% Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba: Si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama. 19PSA059.004 They run and prepare themselves without my fault: awake to help me, and behold. %%% Baddukana, beeteekateeka nga sikoze bubi: Ozuukuke onnyambe, olabe. 19PSA059.005 Thou therefore, O LORD God of hosts, the God of Israel, awake to visit all the heathen: be not merciful to any wicked transgressors. Selah. %%% Ggwe, ai Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, Ogolokoke obuulirire amawanga gonna: Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. (Seera) 19PSA059.006 They return at evening: they make a noise like a dog, and go round about the city. %%% Bakomawo akawungeezi, bakaaba ng'embwa, Beetooloola ekibuga. 19PSA059.007 Behold, they belch out with their mouth: swords are in their lips: for who, say they, doth hear? %%% Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe: Kubanga boogera nti Ani awulira? 19PSA059.008 But thou, O LORD, shalt laugh at them; thou shalt have all the heathen in derision. %%% Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; Oliduulira amawanga gonna. 19PSA059.009 Because of his strength will I wait upon thee: for God is my defence. %%% Ai amaanyi gange, naakulindiriranga ggwe: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu. 19PSA059.010 The God of my mercy shall prevent me: God shall let me see my desire upon mine enemies. %%% Katonda ow'okusaasirwa kwange anankulemberanga: Katonda anandabyanga bye njagala nga bituuse ku balabe bange. 19PSA059.011 Slay them not, lest my people forget: scatter them by thy power; and bring them down, O Lord our shield. %%% Tobatta, abantu bange baleme okwerabira: Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ai Mukama engabo yaffe. 19PSA059.012 For the sin of their mouth and the words of their lips let them even be taken in their pride: and for cursing and lying which they speak. %%% Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, Bakwatibwe nga beenyumiriza, Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera. 19PSA059.013 Consume them in wrath, consume them, that they may not be: and let them know that God ruleth in Jacob unto the ends of the earth. Selah. %%% Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate: Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi. (Seera) 19PSA059.014 And at evening let them return; and let them make a noise like a dog, and go round about the city. %%% Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa, Beetooloole ekibuga. 19PSA059.015 Let them wander up and down for meat, and grudge if they be not satisfied. %%% Balitambulatambula nga banoonya emmere, Balikeesa obudde bwe batalikkuta. 19PSA059.016 But I will sing of thy power; yea, I will sing aloud of thy mercy in the morning: for thou hast been my defence and refuge in the day of my trouble. %%% Naye nze naayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, naayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya: Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange. 19PSA059.017 Unto thee, O my strength, will I sing: for God is my defence, and the God of my mercy. %%% Ggwe, ai amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda wa kusaasirwa kwange. 19PSA060.001 O God, thou hast cast us off, thou hast scattered us, thou hast been displeased; O turn thyself to us again. %%% Ai Katonda, otusudde, otumenyeemenye; Wasunguwala; otukomyewo, tukwegayiridde. 19PSA060.002 Thou hast made the earth to tremble; thou hast broken it: heal the breaches thereof; for it shaketh. %%% Wakankanya ensi; wagyasa: Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga. 19PSA060.003 Thou hast shewed thy people hard things: thou hast made us to drink the wine of astonishment. %%% Abantu bo obalaze ebigambo ebizibu: otunywesezza omwenge ogw'okutagatta. 19PSA060.004 Thou hast given a banner to them that fear thee, that it may be displayed because of the truth. Selah. %%% Owadde ebendera abo abakutya, Eyolesebwe olw'amazima. (Seera) 19PSA060.005 That thy beloved may be delivered; save with thy right hand, and hear me. %%% Muganzi wo alyoke awonyezebwe, Lokola n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu. 19PSA060.006 God hath spoken in his holiness; I will rejoice, I will divide Shechem, and mete out the valley of Succoth. %%% Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi. 19PSA060.007 Gilead is mine, and Manasseh is mine; Ephraim also is the strength of mine head; Judah is my lawgiver; %%% Gireyaadi wange, era Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka. 19PSA060.008 Moab is my washpot; over Edom will I cast out my shoe: Philistia, triumph thou because of me. %%% Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto yange: Ggwe Firisutiya, yogerera waggulu ku lwange. 19PSA060.009 Who will bring me into the strong city? who will lead me into Edom? %%% Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu? 19PSA060.010 Wilt not thou, O God, which hadst cast us off? and thou, O God, which didst not go out with our armies? %%% Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe. 19PSA060.011 Give us help from trouble: for vain is the help of man. %%% Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu. 19PSA060.012 Through God we shall do valiantly: for he it is that shall tread down our enemies. %%% Katonda ye anaatukozanga eby'obuzira: Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga ku balabe baffe. 19PSA061.001 Hear my cry, O God; attend unto my prayer. %%% Owulire okukaaba kwange, ai Katonda; Olowooze okusaba kwange. 19PSA061.002 From the end of the earth will I cry unto thee, when my heart is overwhelmed: lead me to the rock that is higher than I. %%% Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga; omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu. 19PSA061.003 For thou hast been a shelter for me, and a strong tower from the enemy. %%% Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe. 19PSA061.004 I will abide in thy tabernacle for ever: I will trust in the covert of thy wings. Selah. %%% Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera) 19PSA061.005 For thou, O God, hast heard my vows: thou hast given me the heritage of those that fear thy name. %%% Kubanga ggwe, ai Katonda, owulidde obweyamo bwange: Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo. 19PSA061.006 Thou wilt prolong the king's life: and his years as many generations. %%% Olyongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka: Emyaka gye giriba ng'emirembe emingi. 19PSA061.007 He shall abide before God for ever: O prepare mercy and truth, which may preserve him. %%% Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna: Kale teekateeka ekisa n'amazima, biryoke bimuwonye. 19PSA061.008 So will I sing praise unto thy name for ever, that I may daily perform my vows. %%% Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna; Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange. 19PSA062.001 Truly my soul waiteth upon God: from him cometh my salvation. %%% Emmeeme yange erindirira Katonda yekka: Oyo obulokozi bwange mwe buva. 19PSA062.002 He only is my rock and my salvation; he is my defence; I shall not be greatly moved. %%% Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nnyo. 19PSA062.003 How long will ye imagine mischief against a man? ye shall be slain all of you: as a bowing wall shall ye be, and as a tottering fence. %%% Mulituusa wa okulumba omuntu, Okumutta, mmwe mwenna, Ng'ekisenge ekyewunzise, ng'olukomera oluyuuguuma? 19PSA062.004 They only consult to cast him down from his excellency: they delight in lies: they bless with their mouth, but they curse inwardly. Selah. %%% Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe; Basanyukira eby'obulimba: Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe, naye bakolima munda. 19PSA062.005 My soul, wait thou only upon God; for my expectation is from him. %%% Emmeeme yange, lindirira Katonda yekka; Kubanga oyo okusubira kwange mwe kuva. 19PSA062.006 He only is my rock and my salvation: he is my defence; I shall not be moved. %%% Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Oyo kye kigo kyange ekiwanvu: sirisagaasagana. 19PSA062.007 In God is my salvation and my glory: the rock of my strength, and my refuge, is in God. %%% Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange: Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda. 19PSA062.008 Trust in him at all times; ye people, pour out your heart before him: God is a refuge for us. Selah. %%% Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge: 19PSA062.009 Surely men of low degree are vanity, and men of high degree are a lie: to be laid in the balance, they are altogether lighter than vanity. %%% Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba: Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa: 19PSA062.010 Trust not in oppression, and become not vain in robbery: if riches increase, set not your heart upon them. %%% Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga: Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo. 19PSA062.011 God hath spoken once; twice have I heard this; that power belongeth unto God. %%% Katonda yayogera omulundi gumu, Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri; Nga Katonda ye nannyini buyinza: 19PSA062.012 Also unto thee, O Lord, belongeth mercy: for thou renderest to every man according to his work. %%% Era ggwe, ai Mukama, olina okusaasira: Kubanga osasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. 19PSA063.001 O God, thou art my God; early will I seek thee: my soul thirsteth for thee, my flesh longeth for thee in a dry and thirsty land, where no water is; %%% Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya. Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi. 19PSA063.002 To see thy power and thy glory, so as I have seen thee in the sanctuary. %%% Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu, Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo. 19PSA063.003 Because thy lovingkindness is better than life, my lips shall praise thee. %%% Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga. 19PSA063.004 Thus will I bless thee while I live: I will lift up my hands in thy name. %%% Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu: Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo. 19PSA063.005 My soul shall be satisfied as with marrow and fatness; and my mouth shall praise thee with joyful lips: %%% Emmeeme yange enekkusibwanga ng'obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka; 19PSA063.006 When I remember thee upon my bed, and meditate on thee in the night watches. %%% Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro. 19PSA063.007 Because thou hast been my help, therefore in the shadow of thy wings will I rejoice. %%% Kubanga wabeera mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga. 19PSA063.008 My soul followeth hard after thee: thy right hand upholdeth me. %%% Emmeeme yange efuga okukugoberera: Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira. 19PSA063.009 But those that seek my soul, to destroy it, shall go into the lower parts of the earth. %%% Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi w'ettaka. 19PSA063.010 They shall fall by the sword: they shall be a portion for foxes. %%% Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala: Balibeera mugabo gwa bibe. 19PSA063.011 But the king shall rejoice in God; every one that sweareth by him shall glory: but the mouth of them that speak lies shall be stopped. %%% Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa. 19PSA064.001 Hear my voice, O God, in my prayer: preserve my life from fear of the enemy. %%% Owulirenga eddoboozi lyange, ai Katonda, mu kwemulugunya kwange: Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe. 19PSA064.002 Hide me from the secret counsel of the wicked; from the insurrection of the workers of iniquity: %%% Onkweke eri abakozi b'obubi abateesa mu kyama; N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu: 19PSA064.003 Who whet their tongue like a sword, and bend their bows to shoot their arrows, even bitter words: %%% Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala, Abateebye obusaale bwabwe bye bigambo eby'obukambwe: 19PSA064.004 That they may shoot in secret at the perfect: suddenly do they shoot at him, and fear not. %%% Balasize oyo eyatuukirira mu bifo eby'ekyama: Baamulasa nga talaba, ne batatya. 19PSA064.005 They encourage themselves in an evil matter: they commune of laying snares privily; they say, Who shall see them? %%% Bagumyagana emyoyo mu kuteesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti Anaagiraba ani? 19PSA064.006 They search out iniquities; they accomplish a diligent search: both the inward thought of every one of them, and the heart, is deep. %%% Banoonya ebitali bya butuukirivu; boogera nti Tumaze okunoonyeza ddala nga tufuba: N'okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biri ng'obuziba. 19PSA064.007 But God shall shoot at them with an arrow; suddenly shall they be wounded. %%% Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n’akasaale nga tebalowooza. 19PSA064.008 So they shall make their own tongue to fall upon themselves: all that see them shall flee away. %%% Bwe batyo bwe baneesittazibwanga, olulimi lwabwe bennyini nga lubagwisa: Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe. 19PSA064.009 And all men shall fear, and shall declare the work of God; for they shall wisely consider of his doing. %%% Era abantu bonna banaatyanga; Ne batendera omulimu gwa Katonda, Ne balowooza n'amagezi bye yakola. 19PSA064.010 The righteous shall be glad in the LORD, and shall trust in him; and all the upright in heart shall glory. %%% Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga; Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga. 19PSA065.001 Praise waiteth for thee, O God, in Sion: and unto thee shall the vow be performed. %%% Ettendo likulindirira, ai Katonda, mu Sayuuni: Era ggwe gwe banaatuukiririzanga obweyamo. 19PSA065.002 O thou that hearest prayer, unto thee shall all flesh come. %%% Ai ggwe awulira okusaba, Bonna abalina omubiri balijja gy'oli. 19PSA065.003 Iniquities prevail against me: as for our transgressions, thou shalt purge them away. %%% Ebitali bya butuukirivu binsinze: Okwonoona kwaffe olikunaaliza ddala. 19PSA065.004 Blessed is the man whom thou choosest, and causest to approach unto thee, that he may dwell in thy courts: we shall be satisfied with the goodness of thy house, even of thy holy temple. %%% Alina omukisa oyo gw'olonda, era gw'osembeza gy'oli. Abeerenga mu mpya zo: Tunakkusibwanga obulungi obw'ennyumba yo, Awatukuvu mu yeekaalu yo. 19PSA065.005 By terrible things in righteousness wilt thou answer us, O God of our salvation; who art the confidence of all the ends of the earth, and of them that are afar off upon the sea: %%% N'ebigambo eby'entiisa olituddamu mu butuukirivu, Ai Katonda ow'obulokozi bwaffe; Ggwe enkomerero zonna ez'ensi gwe zeesiga, N'abo abali ewala ku nnyanja: 19PSA065.006 Which by his strength setteth fast the mountains; being girded with power: %%% Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge: Nga yeesiba obuyinza: 19PSA065.007 Which stilleth the noise of the seas, the noise of their waves, and the tumult of the people. %%% Asirisa okuwuuma kw'ennyanja, Okuwuuma kw'amayengo gaayo, N'okuyoogaana kw'amawanga. 19PSA065.008 They also that dwell in the uttermost parts are afraid at thy tokens: thou makest the outgoings of the morning and evening to rejoice. %%% Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo: Ggwe osanyusa emiryango gy'enkya n'egy'akawungeezi. 19PSA065.009 Thou visitest the earth, and waterest it: thou greatly enrichest it with the river of God, which is full of water: thou preparest them corn, when thou hast so provided for it. %%% Okyalira ensi, n'ogifukirira, Ogigaggawaza nnyo; Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi: Obalabira eŋŋaano, ng'omaze okulongoosa ensi bw'otyo. 19PSA065.010 Thou waterest the ridges thereof abundantly: thou settlest the furrows thereof: thou makest it soft with showers: thou blessest the springing thereof. %%% Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi; Olongoosa ebibibi byayo: Ogigonza n'oluwandaggirize; Okuwa omukisa okumera kwayo. 19PSA065.011 Thou crownest the year with thy goodness; and thy paths drop fatness. %%% Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo; N'amakubo go gatonnyesa obugimu. 19PSA065.012 They drop upon the pastures of the wilderness: and the little hills rejoice on every side. %%% Gatonnyesa mu malundiro ag'omu ddungu: N'obusozi bwesiba essanyu. 19PSA065.013 The pastures are clothed with flocks; the valleys also are covered over with corn; they shout for joy, they also sing. %%% Amalundiro gambala ebisibo; Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano: Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba. 19PSA066.001 Make a joyful noise unto God, all ye lands: %%% Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ensi yonna: 19PSA066.002 Sing forth the honour of his name: make his praise glorious. %%% Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye: Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa. 19PSA066.003 Say unto God, How terrible art thou in thy works! through the greatness of thy power shall thine enemies submit themselves unto thee. %%% Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira. 19PSA066.004 All the earth shall worship thee, and shall sing unto thee; they shall sing to thy name. Selah. %%% Ensi yonna erikusinza, Erikuyimbira ggwe; Baliyimbira erinnya lyo. (Seera) 19PSA066.005 Come and see the works of God: he is terrible in his doing toward the children of men. %%% Mujje mulabe emirimu gya Katonda; Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu. 19PSA066.006 He turned the sea into dry land: they went through the flood on foot: there did we rejoice in him. %%% Ennyanja yagifuula olukalu: Baayita mu mugga n'ebigere: Awo we twamusanyukirira. 19PSA066.007 He ruleth by his power for ever; his eyes behold the nations: let not the rebellious exalt themselves. Selah. %%% Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga: Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera) 19PSA066.008 O bless our God, ye people, and make the voice of his praise to be heard: %%% Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe, Muwulize eddoboozi erimutendereza: 19PSA066.009 Which holdeth our soul in life, and suffereth not our feet to be moved. %%% Akwatirira emmeeme yaffe obutafa, Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana. 19PSA066.010 For thou, O God, hast proved us: thou hast tried us, as silver is tried. %%% Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza: Watukema nga bwe bakema effeeza. 19PSA066.011 Thou broughtest us into the net; thou laidst affliction upon our loins. %%% Watuyingiza mu kitimba; Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe. 19PSA066.012 Thou hast caused men to ride over our heads; we went through fire and through water: but thou broughtest us out into a wealthy place. %%% Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe; Twayita mu muliro ne mu mazzi; Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga. 19PSA066.013 I will go into thy house with burnt offerings: I will pay thee my vows, %%% Naayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa, Naakusasula obweyamo bwange, 19PSA066.014 Which my lips have uttered, and my mouth hath spoken, when I was in trouble. %%% Emimwa gyange bwe gyayogera, N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku. 19PSA066.015 I will offer unto thee burnt sacrifices of fatlings, with the incense of rams; I will offer bullocks with goats. Selah. %%% Naakuwa ebyokwokya ebya ssava, N'ebyokwoteza eby'endiga eza seddume; Naawaayo ente n'embuzi. (Seera) 19PSA066.016 Come and hear, all ye that fear God, and I will declare what he hath done for my soul. %%% Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda, Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange. 19PSA066.017 I cried unto him with my mouth, and he was extolled with my tongue. %%% Namukoowoola n’akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange. 19PSA066.018 If I regard iniquity in my heart, the Lord will not hear me: %%% Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire: 19PSA066.019 But verily God hath heard me; he hath attended to the voice of my prayer. %%% Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange. 19PSA066.020 Blessed be God, which hath not turned away my prayer, nor his mercy from me. %%% Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe. 19PSA067.001 God be merciful unto us, and bless us; and cause his face to shine upon us; Selah. %%% Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa. Atwakizenga amaaso ge; (Seera) 19PSA067.002 That thy way may be known upon earth, thy saving health among all nations. %%% Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi, Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna. 19PSA067.003 Let the people praise thee, O God; let all the people praise thee. %%% Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga. 19PSA067.004 O let the nations be glad and sing for joy: for thou shalt judge the people righteously, and govern the nations upon earth. Selah. %%% Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu: Kubanga olisalira abantu emisango egy'ensonga, Era olifugira amawanga mu nsi. (Seera) 19PSA067.005 Let the people praise thee, O God; let all the people praise thee. %%% Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga, 19PSA067.006 Then shall the earth yield her increase; and God, even our own God, shall bless us. %%% Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa. 19PSA067.007 God shall bless us; and all the ends of the earth shall fear him. %%% Katonda anaatuwanga omukisa; N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga. 19PSA068.001 Let God arise, let his enemies be scattered: let them also that hate him flee before him. %%% Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge. 19PSA068.002 As smoke is driven away, so drive them away: as wax melteth before the fire, so let the wicked perish at the presence of God. %%% Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo: Ng'envumbo bw'esaanuuka ku muliro, Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda. 19PSA068.003 But let the righteous be glad; let them rejoice before God: yea, let them exceedingly rejoice. %%% Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda: Weewaawo, bajaguze n'essanyu. 19PSA068.004 Sing unto God, sing praises to his name: extol him that rideth upon the heavens by his name JAH, and rejoice before him. %%% Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye: Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; YA lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge. 19PSA068.005 A father of the fatherless, and a judge of the widows, is God in his holy habitation. %%% Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango, Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu. 19PSA068.006 God setteth the solitary in families: he bringeth out those which are bound with chains: but the rebellious dwell in a dry land. %%% Katonda awa abawuulu ennyumba: Aggya abasibe (mu kkomera) okulaba ebirungi: Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze. 19PSA068.007 O God, when thou wentest forth before thy people, when thou didst march through the wilderness; Selah: %%% Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula mu ddungu; (Seera) 19PSA068.008 The earth shook, the heavens also dropped at the presence of God: even Sinai itself was moved at the presence of God, the God of Israel. %%% Ensi n'ekankana, Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri. 19PSA068.009 Thou, O God, didst send a plentiful rain, whereby thou didst confirm thine inheritance, when it was weary. %%% Ggwe, ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye. 19PSA068.010 Thy congregation hath dwelt therein: thou, O God, hast prepared of thy goodness for the poor. %%% Ekibiina kyo kyatuula omwo: Ggwe, ai Katonda; wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo. 19PSA068.011 The Lord gave the word: great was the company of those that published it. %%% Mukama yawa ekigambo: Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye eringi. 19PSA068.012 Kings of armies did flee apace: and she that tarried at home divided the spoil. %%% Bakabaka b'eggye badduka, badduka: Omukazi asigala eka ye agaba omunyago. 19PSA068.013 Though ye have lien among the pots, yet shall ye be as the wings of a dove covered with silver, and her feathers with yellow gold. %%% Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu? 19PSA068.014 When the Almighty scattered kings in it, it was white as snow in Salmon. %%% Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni. 19PSA068.015 The hill of God is as the hill of Bashan; an high hill as the hill of Bashan. %%% Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu. 19PSA068.016 Why leap ye, ye high hills? this is the hill which God desireth to dwell in; yea, the LORD will dwell in it for ever. %%% Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna. 19PSA068.017 The chariots of God are twenty thousand, even thousands of angels: the Lord is among them, as in Sinai, in the holy place. %%% Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n’enkumi: Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu. 19PSA068.018 Thou hast ascended on high, thou hast led captivity captive: thou hast received gifts for men; yea, for the rebellious also, that the LORD God might dwell among them. %%% Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo. 19PSA068.019 Blessed be the Lord, who daily loadeth us with benefits, even the God of our salvation. Selah. %%% Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera) 19PSA068.020 He that is our God is the God of salvation; and unto GOD the Lord belong the issues from death. %%% Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa. 19PSA068.021 But God shall wound the head of his enemies, and the hairy scalp of such an one as goeth on still in his trespasses. %%% Naye Katonda alifumita omutwe gw'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango. 19PSA068.022 The Lord said, I will bring again from Bashan, I will bring my people again from the depths of the sea: %%% Mukama yayogera nti Ndikomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja: 19PSA068.023 That thy foot may be dipped in the blood of thine enemies, and the tongue of thy dogs in the same. %%% Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lubeerenga n'omugabo gwalwo eri abalabe bo. 19PSA068.024 They have seen thy goings, O God; even the goings of my God, my King, in the sanctuary. %%% Balabye bw'otambula, ai Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu. 19PSA068.025 The singers went before, the players on instruments followed after; among them were the damsels playing with timbrels. %%% Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa. 19PSA068.026 Bless ye God in the congregations, even the Lord, from the fountain of Israel. %%% Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe ab'oluzzi lwa Isiraeri. 19PSA068.027 There is little Benjamin with their ruler, the princes of Judah and their council, the princes of Zebulun, and the princes of Naphtali. %%% Waliwo Benyamini omuto abafuga, Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo, Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali. 19PSA068.028 Thy God hath commanded thy strength: strengthen, O God, that which thou hast wrought for us. %%% Katonda wo alagidde amaanyi go: Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera. 19PSA068.029 Because of thy temple at Jerusalem shall kings bring presents unto thee. %%% Olwa yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo. 19PSA068.030 Rebuke the company of spearmen, the multitude of the bulls, with the calves of the people, till every one submit himself with pieces of silver: scatter thou the people that delight in war. %%% Onenye ensolo ey'omu bitoogo, Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga, Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo; Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo. 19PSA068.031 Princes shall come out of Egypt; Ethiopia shall soon stretch out her hands unto God. %%% Abalangira baliva mu Misiri; Kuusi eryanguwa okugolola emikono gye eri Katonda. 19PSA068.032 Sing unto God, ye kingdoms of the earth; O sing praises unto the Lord; Selah: %%% Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera) 19PSA068.033 To him that rideth upon the heavens of heavens, which were of old; lo, he doth send out his voice, and that a mighty voice. %%% Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi. 19PSA068.034 Ascribe ye strength unto God: his excellency is over Israel, and his strength is in the clouds. %%% Mumuwe Katonda amaanyi: Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu. 19PSA068.035 O God, thou art terrible out of thy holy places: the God of Israel is he that giveth strength and power unto his people. Blessed be God. %%% Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu: Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe. 19PSA069.001 Save me, O God; for the waters are come in unto my soul. %%% Ndokola, ai Katonda; Kubanga amazzi gayingidde ne gatuuka ku mmeeme yange. 19PSA069.002 I sink in deep mire, where there is no standing: I am come into deep waters, where the floods overflow me. %%% Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira: Ntuuse mu buziba amazzi amangi we gampitirako. 19PSA069.003 I am weary of my crying: my throat is dried: mine eyes fail while I wait for my God. %%% Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze: Amaaso gange ganzibye nga nnindirira Katonda wange. 19PSA069.004 They that hate me without a cause are more than the hairs of mine head: they that would destroy me, being mine enemies wrongfully, are mighty: then I restored that which I took not away. %%% Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi: Abaagala okunzikiriza, kubanga be balabe bange awatali nsonga, ba maanyi: Ne ndyoka nziza kye saabaggyaako. 19PSA069.005 O God, thou knowest my foolishness; and my sins are not hid from thee. %%% Ai Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange: N'okwonoona kwange tekukisibwa ggwe. 19PSA069.006 Let not them that wait on thee, O Lord GOD of hosts, be ashamed for my sake: let not those that seek thee be confounded for my sake, O God of Israel. %%% Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, ai Mukama Katonda ow'eggye: Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, ai Katonda wa Isiraeri. 19PSA069.007 Because for thy sake I have borne reproach; shame hath covered my face. %%% Kubanga banvuma okunnanga ggwe; Ensonyi zibisse amaaso gange. 19PSA069.008 I am become a stranger unto my brethren, and an alien unto my mother's children. %%% Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange, Era atali mumanyi eri abaana ba mmange. 19PSA069.009 For the zeal of thine house hath eaten me up; and the reproaches of them that reproached thee are fallen upon me. %%% Kubanga obuggya obw'ennyumba yo bundidde; N'ebivume by'abo abakuvuma ggwe binguddeko. 19PSA069.010 When I wept, and chastened my soul with fasting, that was to my reproach. %%% Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n'esiiba enjala, Ekyo kye kyanvumya. 19PSA069.011 I made sackcloth also my garment; and I became a proverb to them. %%% Bwe nnayambala ebibukutu, Ne mbafuukira eŋŋombo. 19PSA069.012 They that sit in the gate speak against me; and I was the song of the drunkards. %%% Abatuula mu mulyango banjogerako, Era ndi luyimba lwa batamiivu. 19PSA069.013 But as for me, my prayer is unto thee, O LORD, in an acceptable time: O God, in the multitude of thy mercy hear me, in the truth of thy salvation. %%% Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, ai Mukama, mn kiseera eky'okukkiririzaamu: Ai Katonda, mu kusaasira kwo okungi, Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo. 19PSA069.014 Deliver me out of the mire, and let me not sink: let me be delivered from them that hate me, and out of the deep waters. %%% Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira: Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag'eddubi. 19PSA069.015 Let not the waterflood overflow me, neither let the deep swallow me up, and let not the pit shut her mouth upon me. %%% Amazzi amangi galeme okumpangula, Newakubadde obuziba buleme okummira; Newakubadde obunnya buleme okunzibira akamwa kaabwo. 19PSA069.016 Hear me, O LORD; for thy lovingkindness is good: turn unto me according to the multitude of thy tender mercies. %%% Onziremu, ai Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi: Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire. 19PSA069.017 And hide not thy face from thy servant; for I am in trouble: hear me speedily. %%% So tokisa amaaso go omuddu wo; Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu. 19PSA069.018 Draw nigh unto my soul, and redeem it: deliver me because of mine enemies. %%% Osemberere emmeeme yange, oginunule: Ompe eddembe olw'abalabe bange. 19PSA069.019 Thou hast known my reproach, and my shame, and my dishonour: mine adversaries are all before thee. %%% Ggwe omanyi bwe nvumibwa, bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa: Abalabe bange bonna bali mu maaso go. 19PSA069.020 Reproach hath broken my heart; and I am full of heaviness: and I looked for some to take pity, but there was none; and for comforters, but I found none. %%% Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku: Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu: Era abanansanyusa, naye ne siraba. 19PSA069.021 They gave me also gall for my meat; and in my thirst they gave me vinegar to drink. %%% Era bampa omususa okuba emmere yange; Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu, 19PSA069.022 Let their table become a snare before them: and that which should have been for their welfare, let it become a trap. %%% Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gye bali; Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego. 19PSA069.023 Let their eyes be darkened, that they see not; and make their loins continually to shake. %%% Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba; Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna. 19PSA069.024 Pour out thine indignation upon them, and let thy wrathful anger take hold of them. %%% Obafukengako ekiruyi kyo, N'obusungu bwo obukambwe bubatuukengako. 19PSA069.025 Let their habitation be desolate; and let none dwell in their tents. %%% Ennyumba yaabwe erekebwenga, So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe. 19PSA069.026 For they persecute him whom thou hast smitten; and they talk to the grief of those whom thou hast wounded. %%% Kubanga baayigganya oyo gw'okubye; Era boogera ku nnaku zaabo b'ofumise. 19PSA069.027 Add iniquity unto their iniquity: and let them not come into thy righteousness. %%% Oyongerenga obubi ku bubi bwabwe: So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo. 19PSA069.028 Let them be blotted out of the book of the living, and not be written with the righteous. %%% Basangulibwenga okuva mu kitabo ky'obulamu, So balemenga okuwandiikibwa awamu n'abatuukirivu. 19PSA069.029 But I am poor and sorrowful: let thy salvation, O God, set me up on high. %%% Naye nze ndi mwavu, munaku: Obulokozi bwo, ai Katonda, bungulumize waggulu. 19PSA069.030 I will praise the name of God with a song, and will magnify him with thanksgiving. %%% Naatenderezanga erinnya lya Katonda n'oluyimba, Naamugulumizanga n'okwebaza. 19PSA069.031 This also shall please the LORD better than an ox or bullock that hath horns and hoofs. %%% Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente, Ente erina amayembe n'ebinuulo. 19PSA069.032 The humble shall see this, and be glad: and your heart shall live that seek God. %%% Abawombeefu bakirabye ne basanyuka: Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu. 19PSA069.033 For the LORD heareth the poor, and despiseth not his prisoners. %%% Kubanga Mukama awulira abaavu, So tanyooma basibe be. 19PSA069.034 Let the heaven and earth praise him, the seas, and every thing that moveth therein. %%% Eggulu n'ensi bimutenderezenga, Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu. 19PSA069.035 For God will save Zion, and will build the cities of Judah: that they may dwell there, and have it in possession. %%% Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, era alizimba ebibuga bya Yuda; Nabo balituula omwo, ne bagirya 19PSA069.036 The seed also of his servants shall inherit it: and they that love his name shall dwell therein. %%% Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira; N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo. 19PSA070.001 MAKE HASTE, O GOD, TO DELIVER ME; MAKE HASTE TO HELP ME, O LORD. %%% Oyanguwe, ai Katonda, okundokola; Oyanguwe okunnyamba, ai Mukama. 19PSA070.002 Let them be ashamed and confounded that seek after my soul: let them be turned backward, and put to confusion, that desire my hurt. %%% Bakwatibwe ensonyi baswale Abanoonya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma bajeezebwe Abasanyukira okufiirwa kwange. 19PSA070.003 Let them be turned back for a reward of their shame that say, Aha, aha. %%% Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe Aboogera nti Nyenya, nyenya. 19PSA070.004 Let all those that seek thee rejoice and be glad in thee: and let such as love thy salvation say continually, Let God be magnified. %%% Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga; N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Katonda agulumizibwenga. 19PSA070.005 But I am poor and needy: make haste unto me, O God: thou art my help and my deliverer; O LORD, make no tarrying. %%% Naye nze ndi mwavu, sirina kintu; Oyanguwe okujja gye ndi, ai Katonda: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Ai Mukama, tolwawo. 19PSA071.001 In thee, O LORD, do I put my trust: let me never be put to confusion. %%% Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga: Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna. 19PSA071.002 Deliver me in thy righteousness, and cause me to escape: incline thine ear unto me, and save me. %%% Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye: Ontegere okutu, ondokole. 19PSA071.003 Be thou my strong habitation, whereunto I may continually resort: thou hast given commandment to save me; for thou art my rock and my fortress. %%% Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo: Walagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange. 19PSA071.004 Deliver me, O my God, out of the hand of the wicked, out of the hand of the unrighteous and cruel man. %%% Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe. 19PSA071.005 For thou art my hope, O Lord GOD: thou art my trust from my youth. %%% Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange. 19PSA071.006 By thee have I been holden up from the womb: thou art he that took me out of my mother's bowels: my praise shall be continually of thee. %%% Ggwe wampanirira okuva mu lubuto: Ggwe wanziya mu byenda bya mmange: Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna. 19PSA071.007 I am as a wonder unto many; but thou art my strong refuge. %%% Nninga ekitalo eri abantu abangi; Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi. 19PSA071.008 Let my mouth be filled with thy praise and with thy honour all the day. %%% Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde. 19PSA071.009 Cast me not off in the time of old age; forsake me not when my strength faileth. %%% Tonsuula mu biro eby'obukadde; Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula. 19PSA071.010 For mine enemies speak against me; and they that lay wait for my soul take counsel together, %%% Kubanga abalabe bange banjogerako; N'abo abateega emmeeme yange bateesa wamu, 19PSA071.011 Saying, God hath forsaken him: persecute and take him; for there is none to deliver him. %%% Nga boogera nti Katonda amulese: Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya. 19PSA071.012 O God, be not far from me: O my God, make haste for my help. %%% Ai Katonda, tombeera wala: Ai Katonda wange, yanguwa okunnyamba. 19PSA071.013 Let them be confounded and consumed that are adversaries to my soul; let them be covered with reproach and dishonour that seek my hurt. %%% Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange; Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi. 19PSA071.014 But I will hope continually, and will yet praise thee more and more. %%% Naye naasuubiranga ennaku zonna, Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo. 19PSA071.015 My mouth shall shew forth thy righteousness and thy salvation all the day; for I know not the numbers thereof. %%% Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi. 19PSA071.016 I will go in the strength of the Lord GOD: I will make mention of thy righteousness, even of thine only. %%% Najjanga n'ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda: Naayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka. 19PSA071.017 O God, thou hast taught me from my youth: and hitherto have I declared thy wondrous works. %%% Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo. 19PSA071.018 Now also when I am old and greyheaded, O God, forsake me not; until I have shewed thy strength unto this generation, and thy power to every one that is to come. %%% Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja. 19PSA071.019 Thy righteousness also, O God, is very high, who hast done great things: O God, who is like unto thee! %%% Era n'obutuukirivu bwo, ai Katonda, bugulumivu nnyo: Ggwe eyakola ebikulu, Ai Katonda, afaanana nga ggwe ani? 19PSA071.020 Thou, which hast shewed me great and sore troubles, shalt quicken me again, and shalt bring me up again from the depths of the earth. %%% Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi. 19PSA071.021 Thou shalt increase my greatness, and comfort me on every side. %%% Oyongerenga ggwe obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse. 19PSA071.022 I will also praise thee with the psaltery, even thy truth, O my God: unto thee will I sing with the harp, O thou Holy One of Israel. %%% Era naakutenderezanga n'endere, Amazima go ge nnaatenderezanga, ai Katonda wange: Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga, Ai ggwe Omumkuvu wa Isiraeri. 19PSA071.023 My lips shall greatly rejoice when I sing unto thee; and my soul, which thou hast redeemed. %%% Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza; N'emmeeme yange gye wanunula. 19PSA071.024 My tongue also shall talk of thy righteousness all the day long: for they are confounded, for they are brought unto shame, that seek my hurt. %%% Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde: Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi. 19PSA072.001 Give the king thy judgments, O God, and thy righteousness unto the king's son. %%% Owenga kabaka emisango gyo, ai Katonda Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka. 19PSA072.002 He shall judge thy people with righteousness, and thy poor with judgment. %%% Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutuukirivu, N'abaavu bo egy'ensonga. 19PSA072.003 The mountains shall bring peace to the people, and the little hills, by righteousness. %%% Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe, N'obusozi, mu butuukirivu. 19PSA072.004 He shall judge the poor of the people, he shall save the children of the needy, and shall break in pieces the oppressor. %%% Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu, Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu, Era anaamenyaamenyanga omujoozi. 19PSA072.005 They shall fear thee as long as the sun and moon endure, throughout all generations. %%% Banaakutyanga ng'enjuba ekyaliwo, Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna. 19PSA072.006 He shall come down like rain upon the mown grass: as showers that water the earth. %%% Alikka ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa: Ng'empandaggirize ezifukirira ensi. 19PSA072.007 In his days shall the righteous flourish; and abundance of peace so long as the moon endureth. %%% Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo. 19PSA072.008 He shall have dominion also from sea to sea, and from the river unto the ends of the earth. %%% Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, Era okuva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi. 19PSA072.009 They that dwell in the wilderness shall bow before him; and his enemies shall lick the dust. %%% Abatuula mu ddungu balimufukaamirira; N'abalabe be balikomba enfuufu. 19PSA072.010 The kings of Tarshish and of the isles shall bring presents: the kings of Sheba and Seba shall offer gifts. %%% Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku Bizinga banaaleetanga ebirabo: Bakabaka w’e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone. 19PSA072.011 Yea, all kings shall fall down before him: all nations shall serve him. %%% Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge: Amawanga gonna ganaamuweerezanga. 19PSA072.012 For he shall deliver the needy when he crieth; the poor also, and him that hath no helper. %%% Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga: N'omwavu atalina mubeezi. 19PSA072.013 He shall spare the poor and needy, and shall save the souls of the needy. %%% Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga. 19PSA072.014 He shall redeem their soul from deceit and violence: and precious shall their blood be in his sight. %%% Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n'ettima: N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge: 19PSA072.015 And he shall live, and to him shall be given of the gold of Sheba: prayer also shall be made for him continually; and daily shall he be praised. %%% Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e banaamusabiranga Syeba: Era abantu bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde. 19PSA072.016 There shall be an handful of corn in the earth upon the top of the mountains; the fruit thereof shall shake like Lebanon: and they of the city shall flourish like grass of the earth. %%% Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaayuuganga nga Lebanooni: N'ab'ekibuga banaameranga ng'omuddo ogw'oku nsi. 19PSA072.017 His name shall endure for ever: his name shall be continued as long as the sun: and men shall be blessed in him: all nations shall call him blessed. %%% Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba: N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa. 19PSA072.018 Blessed be the LORD God, the God of Israel, who only doeth wondrous things. %%% Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, Akola eby'amagero yekka: 19PSA072.019 And blessed be his glorious name for ever: and let the whole earth be filled with his glory; Amen, and Amen. %%% N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye. Amiina, era Amiina. 19PSA072.020 The prayers of David the son of Jesse are ended. %%% Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde. 19PSA073.001 Truly God is good to Israel, even to such as are of a clean heart. %%% Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, Eri abo abalina emitima emirongoofu. 19PSA073.002 But as for me, my feet were almost gone; my steps had well nigh slipped. %%% Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa; Okutambula kwange kwabulako katono okuseerera. 19PSA073.003 For I was envious at the foolish, when I saw the prosperity of the wicked. %%% Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya, Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa. 19PSA073.004 For there are no bands in their death: but their strength is firm. %%% Kubanga bafa tebalumwangako: Naye amaanyi gaabwe ganywera. 19PSA073.005 They are not in trouble as other men; neither are they plagued like other men. %%% Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala: 19PSA073.006 Therefore pride compasseth them about as a chain; violence covereth them as a garment. %%% Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo. 19PSA073.007 Their eyes stand out with fatness: they have more than heart could wish. %%% Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala. 19PSA073.008 They are corrupt, and speak wickedly concerning oppression: they speak loftily. %%% Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi: Boogera ebikulu. 19PSA073.009 They set their mouth against the heavens, and their tongue walketh through the earth. %%% Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu, N'olulimi lwabwe lutambulatambula mu nsi. 19PSA073.010 Therefore his people return hither: and waters of a full cup are wrung out to them. %%% Abantu be kyebava bakomawo wano: N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala. 19PSA073.011 And they say, How doth God know? and is there knowledge in the most High? %%% Era boogera nti Katonda amanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo? 19PSA073.012 Behold, these are the ungodly, who prosper in the world; they increase in riches. %%% Laba, abo be babi; Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna. 19PSA073.013 Verily I have cleansed my heart in vain, and washed my hands in innocency. %%% Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona; 19PSA073.014 For all the day long have I been plagued, and chastened every morning. %%% Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya. 19PSA073.015 If I say, I will speak thus; behold, I should offend against the generation of thy children. %%% Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo; Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo. 19PSA073.016 When I thought to know this, it was too painful for me; %%% Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyanteganya ne kinnema; 19PSA073.017 Until I went into the sanctuary of God; then understood I their end. %%% Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero. 19PSA073.018 Surely thou didst set them in slippery places: thou castedst them down into destruction. %%% Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi: Obasuulira ddala ne bazikirira. 19PSA073.019 How are they brought into desolation, as in a moment! they are utterly consumed with terrors. %%% Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono Entiisa zibamalirawo ddala. 19PSA073.020 As a dream when one awaketh; so, O Lord, when thou awakest, thou shalt despise their image. %%% Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe. 19PSA073.021 Thus my heart was grieved, and I was pricked in my reins. %%% Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange yanfumita; 19PSA073.022 So foolish was I, and ignorant: I was as a beast before thee. %%% Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera; Nali nsolo mu maaso go. 19PSA073.023 Nevertheless I am continually with thee: thou hast holden me by my right hand. %%% Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo. 19PSA073.024 Thou shalt guide me with thy counsel, and afterward receive me to glory. %%% Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa. 19PSA073.025 Whom have I in heaven but thee? and there is none upon earth that I desire beside thee. %%% Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe. 19PSA073.026 My flesh and my heart faileth: but God is the strength of my heart, and my portion for ever. %%% Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna. 19PSA073.027 For, lo, they that are far from thee shall perish: thou hast destroyed all them that go a whoring from thee. %%% Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka. 19PSA073.028 But it is good for me to draw near to God: I have put my trust in the Lord GOD, that I may declare all thy works. %%% Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna. 19PSA074.001 O God, why hast thou cast us off for ever? why doth thine anger smoke against the sheep of thy pasture? %%% Ai Katonda, kiki ekyatusuuza ennaku zonna? Kiki ekinyoosa obusungu bwo eri endiga ez'ettale lyo? 19PSA074.002 Remember thy congregation, which thou hast purchased of old; the rod of thine inheritance, which thou hast redeemed; this mount Zion, wherein thou hast dwelt. %%% Ojjukire ekibiina kyo kye wagula edda, Kye wanunula okuba ekika eky'obusika bwo; N'olusozi Sayuuni, lwe watuulangamu. 19PSA074.003 Lift up thy feet unto the perpetual desolations; even all that the enemy hath done wickedly in the sanctuary. %%% Oyimuse ebigere byo ogende mu bifulukwa ebitavaawo, Obubi bwonna omulabe bwe yakola mu watukuvu. 19PSA074.004 Thine enemies roar in the midst of thy congregations; they set up their ensigns for signs. %%% Abalabe bo bawulugumye wakati mu kibiina kyo; Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero. 19PSA074.005 A man was famous according as he had lifted up axes upon the thick trees. %%% Bafaananye ng'abantu abayimusa Embazzi okutema ekisaka eky'omu kibira. 19PSA074.006 But now they break down the carved work thereof at once with axes and hammers. %%% Ne kaakano bamenyaamenya emirimu gyawo gyonna emyole N'embazzi n'ennyondo. 19PSA074.007 They have cast fire into thy sanctuary, they have defiled by casting down the dwelling place of thy name to the ground. %%% Bookezza omuliro awatukuvu wo; Banyoomye ennyumba ey'erinnya lyo ne bagisuula wansi. 19PSA074.008 They said in their hearts, Let us destroy them together: they have burned up all the synagogues of God in the land. %%% Boogedde mu mitima gyabwe nti Tubazikiririze ddala bonna bonna: Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu nsi. 19PSA074.009 We see not our signs: there is no more any prophet: neither is there among us any that knoweth how long. %%% Tetukyalaba bubonero bwaffe; Tewakyali nnabbi n'omu; So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo gye birituusa okubaawo. 19PSA074.010 O God, how long shall the adversary reproach? shall the enemy blaspheme thy name for ever? %%% Ai Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma? Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna? 19PSA074.011 Why withdrawest thou thy hand, even thy right hand? pluck it out of thy bosom. %%% Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo? Oguggye mu kifuba kyo obazikirize. 19PSA074.012 For God is my King of old, working salvation in the midst of the earth. %%% Naye Katonda ye Kabaka wange edda n'edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi. 19PSA074.013 Thou didst divide the sea by thy strength: thou brakest the heads of the dragons in the waters. %%% Wayawula ennyanja n'amaanyi go: Wamenya emitwe gy'ensolo mu mazzi. 19PSA074.014 Thou brakest the heads of leviathan in pieces, and gavest him to be meat to the people inhabiting the wilderness. %%% Wamenyaamenya emitwe gya lukwata, Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu. 19PSA074.015 Thou didst cleave the fountain and the flood: thou driedst up mighty rivers. %%% Wasalamu ensulo n'omukka: Wakaza emigga eminene. 19PSA074.016 The day is thine, the night also is thine: thou hast prepared the light and the sun. %%% Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba. 19PSA074.017 Thou hast set all the borders of the earth: thou hast made summer and winter. %%% Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi. 19PSA074.018 Remember this, that the enemy hath reproached, O LORD, and that the foolish people have blasphemed thy name. %%% Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, ai Mukama, Era ng'eggwanga essirusiru liboggoledde erinnya lyo. 19PSA074.019 O deliver not the soul of thy turtledove unto the multitude of the wicked: forget not the congregation of thy poor for ever. %%% Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna. 19PSA074.020 Have respect unto the covenant: for the dark places of the earth are full of the habitations of cruelty. %%% Ojjukire endagaano: Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima. 19PSA074.021 O let not the oppressed return ashamed: let the poor and needy praise thy name. %%% Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde: Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo. 19PSA074.022 Arise, O God, plead thine own cause: remember how the foolish man reproacheth thee daily. %%% Golokoka, ai Katonda, weewolereze ensonga yo, Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma. 19PSA074.023 Forget not the voice of thine enemies: the tumult of those that rise up against thee increaseth continually. %%% Teweerabira ddoboozi lya balabe bo: Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo. 19PSA075.001 Unto thee, O God, do we give thanks, unto thee do we give thanks: for that thy name is near thy wondrous works declare. %%% Tukwebaza, ai Katonda; Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi: Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo. 19PSA075.002 When I shall receive the congregation I will judge uprightly. %%% Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo, Ndisala emisango egy'ensonga. 19PSA075.003 The earth and all the inhabitants thereof are dissolved: I bear up the pillars of it. Selah. %%% Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo: Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera) 19PSA075.004 I said unto the fools, Deal not foolishly: and to the wicked, Lift not up the horn: %%% Nagamba ab'ekyejo nti Temugiranga kyejo: N'ababi nti Temuyimusanga jjembe: 19PSA075.005 Lift not up your horn on high: speak not with a stiff neck. %%% Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu. 19PSA075.006 For promotion cometh neither from the east, nor from the west, nor from the south. %%% Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba, Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiika obwa ddyo. 19PSA075.007 But God is the judge: he putteth down one, and setteth up another. %%% Naye Katonda ye mulamuzi: Atoowaza ono, n'oli amugulumiza. 19PSA075.008 For in the hand of the LORD there is a cup, and the wine is red; it is full of mixture; and he poureth out of the same: but the dregs thereof, all the wicked of the earth shall wring them out, and drink them. %%% Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa. 19PSA075.009 But I will declare for ever; I will sing praises to the God of Jacob. %%% Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna, Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo. 19PSA075.010 All the horns of the wicked also will I cut off; but the horns of the righteous shall be exalted. %%% Era n'amayembe gonna ag'ababi naagazikirizanga; Naye amayembe g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga. 19PSA076.001 In Judah is God known: his name is great in Israel. %%% Mu Yuda Katonda amanyibwa: Erinnya lye kkulu mu Isiraeri. 19PSA076.002 In Salem also is his tabernacle, and his dwelling place in Zion. %%% Era mu Salemi eweema ye mweri, N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni. 19PSA076.003 There brake he the arrows of the bow, the shield, and the sword, and the battle. Selah. %%% Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego, Engabo, n'ekitala, n'olutalo. (Seera 19PSA076.004 Thou art more glorious and excellent than the mountains of prey. %%% Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez'omunyago. 19PSA076.005 The stouthearted are spoiled, they have slept their sleep: and none of the men of might have found their hands. %%% Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; So mu bantu ab'amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe. 19PSA076.006 At thy rebuke, O God of Jacob, both the chariot and horse are cast into a dead sleep. %%% Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo, Eggaali era n'embalaasi n'ebyebasibwa otulo otw'okufa. 19PSA076.007 Thou, even thou, art to be feared: and who may stand in thy sight when once thou art angry? %%% Ggwe, ggwe ogwanira okutiibwa: Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala? 19PSA076.008 Thou didst cause judgment to be heard from heaven; the earth feared, and was still, %%% Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu; Ensi n'etya, n'esirika; 19PSA076.009 When God arose to judgment, to save all the meek of the earth. Selah. %%% Katonda bwe yagolokoka okusala omusango, Okulokola abawombeefu bonna abali mu nsi. (Seera) 19PSA076.010 Surely the wrath of man shall praise thee: the remainder of wrath shalt thou restrain. %%% Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza: Obusungu obulisigalawo olibwesiba. 19PSA076.011 Vow, and pay unto the LORD your God: let all that be round about him bring presents unto him that ought to be feared. %%% Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe: Bonna abamwetoolodde baleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa. 19PSA076.012 He shall cut off the spirit of princes: he is terrible to the kings of the earth. %%% Alizikiriza omwoyo gw'abalangira: Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi. 19PSA077.001 I cried unto God with my voice, even unto God with my voice; and he gave ear unto me. %%% Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange; Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga. 19PSA077.002 In the day of my trouble I sought the Lord: my sore ran in the night, and ceased not: my soul refused to be comforted. %%% Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa. 19PSA077.003 I remembered God, and was troubled: I complained, and my spirit was overwhelmed. Selah. %%% Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira: Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera) 19PSA077.004 Thou holdest mine eyes waking: I am so troubled that I cannot speak. %%% Okwata ku maaso gange nga gatunula: Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera. 19PSA077.005 I have considered the days of old, the years of ancient times. %%% Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda. 19PSA077.006 I call to remembrance my song in the night: I commune with mine own heart: and my spirit made diligent search. %%% Njijukira oluyimba lwange ekiro Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala. 19PSA077.007 Will the Lord cast off for ever? and will he be favourable no more? %%% Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate? 19PSA077.008 Is his mercy clean gone for ever? doth his promise fail for evermore? %%% Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe? 19PSA077.009 Hath God forgotten to be gracious? hath he in anger shut up his tender mercies? Selah. %%% Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera) 19PSA077.010 And I said, This is my infirmity: but I will remember the years of the right hand of the most High. %%% Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo. 19PSA077.011 I will remember the works of the LORD: surely I will remember thy wonders of old. %%% Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda. 19PSA077.012 I will meditate also of all thy work, and talk of thy doings. %%% Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era naafumiitirizanga ebikolwa byo. 19PSA077.013 Thy way, O God, is in the sanctuary: who is so great a God as our God? %%% Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani? 19PSA077.014 Thou art the God that doest wonders: thou hast declared thy strength among the people. %%% Ggwe Katonda akola eby'amagero: Wamanyisa amaanyi go mu mawanga. 19PSA077.015 Thou hast with thine arm redeemed thy people, the sons of Jacob and Joseph. Selah. %%% Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera) 19PSA077.016 The waters saw thee, O God, the waters saw thee; they were afraid: the depths also were troubled. %%% Amazzi gaakulaba, ai Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya: Era n'obuziba ne bukankana. 19PSA077.017 The clouds poured out water: the skies sent out a sound: thine arrows also went abroad. %%% Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne lireeta eddoboozi : Era n'obusaale bwo ne bubuna. 19PSA077.018 The voice of thy thunder was in the heaven: the lightnings lightened the world: the earth trembled and shook. %%% Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna: Ensi n'ekankana n'eyuuguuma. 19PSA077.019 Thy way is in the sea, and thy path in the great waters, and thy footsteps are not known. %%% Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika. 19PSA077.020 Thou leddest thy people like a flock by the hand of Moses and Aaron. %%% Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni. 19PSA078.001 Give ear, O my people, to my law: incline your ears to the words of my mouth. %%% Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange: Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange. 19PSA078.002 I will open my mouth in a parable: I will utter dark sayings of old: %%% Naayasama akamwa kange mu lugero: Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda: 19PSA078.003 Which we have heard and known, and our fathers have told us. %%% Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga. 19PSA078.004 We will not hide them from their children, shewing to the generation to come the praises of the LORD, and his strength, and his wonderful works that he hath done. %%% Tetuubikisenga baana baabwe, Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama, N'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola. 19PSA078.005 For he established a testimony in Jacob, and appointed a law in Israel, which he commanded our fathers, that they should make them known to their children: %%% Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babitegeezenga abaana baabwe: 19PSA078.006 That the generation to come might know them, even the children which should be born; who should arise and declare them to their children: %%% Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa; Abaali bagenda okugolokoka n'okubibuulira abaana baabwe: 19PSA078.007 That they might set their hope in God, and not forget the works of God, but keep his commandments: %%% Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge: 19PSA078.008 And might not be as their fathers, a stubborn and rebellious generation; a generation that set not their heart aright, and whose spirit was not stedfast with God. %%% So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Emirembe emikakanyavu, emijeemu; Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo, N'omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda. 19PSA078.009 The children of Ephraim, being armed, and carrying bows, turned back in the day of battle. %%% Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n'emitego, Ne bakyuka ennyuma ku lunaku olw'olutalo. 19PSA078.010 They kept not the covenant of God, and refused to walk in his law; %%% Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge; 19PSA078.011 And forgat his works, and his wonders that he had shewed them. %%% Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga. 19PSA078.012 Marvellous things did he in the sight of their fathers, in the land of Egypt, in the field of Zoan. %%% Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani. 19PSA078.013 He divided the sea, and caused them to pass through; and he made the waters to stand as an heap. %%% Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo. 19PSA078.014 In the daytime also he led them with a cloud, and all the night with a light of fire. %%% Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro. 19PSA078.015 He clave the rocks in the wilderness, and gave them drink as out of the great depths. %%% Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba. 19PSA078.016 He brought streams also out of the rock, and caused waters to run down like rivers. %%% Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga. 19PSA078.017 And they sinned yet more against him by provoking the most High in the wilderness. %%% Naye ne banyiikira nate okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu. 19PSA078.018 And they tempted God in their heart by asking meat for their lust. %%% Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe Nga basaba emmere olw'okwegomba kwabwe. 19PSA078.019 Yea, they spake against God; they said, Can God furnish a table in the wilderness? %%% Era naye baayogera obubi ku Katonda; Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu? 19PSA078.020 Behold, he smote the rock, that the waters gushed out, and the streams overflowed; can he give bread also? can he provide flesh for his people? %%% Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be? 19PSA078.021 Therefore the LORD heard this, and was wroth: so a fire was kindled against Jacob, and anger also came up against Israel; %%% Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala: Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri: 19PSA078.022 Because they believed not in God, and trusted not in his salvation: %%% Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe. 19PSA078.023 Though he had commanded the clouds from above, and opened the doors of heaven, %%% Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu; 19PSA078.024 And had rained down manna upon them to eat, and had given them of the corn of heaven. %%% N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu. 19PSA078.025 Man did eat angels' food: he sent them meat to the full. %%% Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga ebyokulya n'abakkusa. 19PSA078.026 He caused an east wind to blow in the heaven: and by his power he brought in the south wind. %%% N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu: Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo. 19PSA078.027 He rained flesh also upon them as dust, and feathered fowls like as the sand of the sea: %%% Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja: 19PSA078.028 And he let it fall in the midst of their camp, round about their habitations. %%% N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe. 19PSA078.029 So they did eat, and were well filled: for he gave them their own desire; %%% Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba. 19PSA078.030 They were not estranged from their lust. But while their meat was yet in their mouths, %%% Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe, 19PSA078.031 The wrath of God came upon them, and slew the fattest of them, and smote down the chosen men of Israel. %%% Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo, Ne bubattamu abasinga obunene, Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri. 19PSA078.032 For all this they sinned still, and believed not for his wondrous works. %%% Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate, Ne batakkiriza bya magero bye. 19PSA078.033 Therefore their days did he consume in vanity, and their years in trouble. %%% Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu, N'emyaka gyabwe mu kutya. 19PSA078.034 When he slew them, then they sought him: and they returned and enquired early after God. %%% Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okumunoonya: Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda. 19PSA078.035 And they remembered that God was their rock, and the high God their redeemer. %%% Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula. 19PSA078.036 Nevertheless they did flatter him with their mouth, and they lied unto him with their tongues. %%% Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe. 19PSA078.037 For their heart was not right with him, neither were they stedfast in his covenant. %%% Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye. 19PSA078.038 But he, being full of compassion, forgave their iniquity, and destroyed them not: yea, many a time turned he his anger away, and did not stir up all his wrath. %%% Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza: Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe, N'atakubiriza busungu bwe bwonna. 19PSA078.039 For he remembered that they were but flesh; a wind that passeth away, and cometh not again. %%% Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; Empewo eziyita ne zitadda nate. 19PSA078.040 How oft did they provoke him in the wilderness, and grieve him in the desert! %%% Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola! 19PSA078.041 Yea, they turned back and tempted God, and limited the Holy One of Israel. %%% Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri. 19PSA078.042 They remembered not his hand, nor the day when he delivered them from the enemy. %%% Tebajjukira mukono gwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe. 19PSA078.043 How he had wrought his signs in Egypt, and his wonders in the field of Zoan: %%% Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani; 19PSA078.044 And had turned their rivers into blood; and their floods, that they could not drink. %%% N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa. 19PSA078.045 He sent divers sorts of flies among them, which devoured them; and frogs, which destroyed them. %%% N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza. 19PSA078.046 He gave also their increase unto the caterpiller, and their labour unto the locust. %%% Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige. 19PSA078.047 He destroyed their vines with hail, and their sycomore trees with frost. %%% N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira. 19PSA078.048 He gave up their cattle also to the hail, and their flocks to hot thunderbolts. %%% Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'endiga zaabwe eri enjota ezaaka. 19PSA078.049 He cast upon them the fierceness of his anger, wrath, and indignation, and trouble, by sending evil angels among them. %%% Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi. 19PSA078.050 He made a way to his anger; he spared not their soul from death, but gave their life over to the pestilence; %%% Yakubira obusungu bwe ekkubo, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwabwe eri olumbe; 19PSA078.051 And smote all the firstborn in Egypt; the chief of their strength in the tabernacles of Ham: %%% N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu: 19PSA078.052 But made his own people to go forth like sheep, and guided them in the wilderness like a flock. %%% Naye n'aggyamu abantu be ye ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo. 19PSA078.053 And he led them on safely, so that they feared not: but the sea overwhelmed their enemies. %%% N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya: Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe. 19PSA078.054 And he brought them to the border of his sanctuary, even to this mountain, which his right hand had purchased. %%% N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula. 19PSA078.055 He cast out the heathen also before them, and divided them an inheritance by line, and made the tribes of Israel to dwell in their tents. %%% Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago. 19PSA078.056 Yet they tempted and provoked the most high God, and kept not his testimonies: %%% Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batakwata bye yategeeza; 19PSA078.057 But turned back, and dealt unfaithfully like their fathers: they were turned aside like a deceitful bow. %%% Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe: Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba. 19PSA078.058 For they provoked him to anger with their high places, and moved him to jealousy with their graven images. %%% Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole. 19PSA078.059 When God heard this, he was wroth, and greatly abhorred Israel: %%% Katonda bwe yawulira bw'atyo n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri: 19PSA078.060 So that he forsook the tabernacle of Shiloh, the tent which he placed among men; %%% N'afuluka mu weema ey'omu Siiro, Eweema gye yali ateese mu bantu; 19PSA078.061 And delivered his strength into captivity, and his glory into the enemy's hand. %%% N'awaayo amaanyi ge mu busibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe. 19PSA078.062 He gave his people over also unto the sword; and was wroth with his inheritance. %%% Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe: 19PSA078.063 The fire consumed their young men; and their maidens were not given to marriage. %%% Omuliro ne gulya abavubuka baabwe; N'abawala baabwe ne batab na luyimba lwa kufumbirwa. 19PSA078.064 Their priests fell by the sword; and their widows made no lamentation. %%% Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe. 19PSA078.065 Then the LORD awaked as one out of sleep, and like a mighty man that shouteth by reason of wine. %%% Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge. 19PSA078.066 And he smote his enemies in the hinder parts: he put them to a perpetual reproach. %%% N'akuba abalabe be ne baddayo ennyuma: N'abakwasa ensonyi ezitaggwaawo. 19PSA078.067 Moreover he refused the tabernacle of Joseph, and chose not the tribe of Ephraim: %%% Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu; 19PSA078.068 But chose the tribe of Judah, the mount Zion which he loved. %%% Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala. 19PSA078.069 And he built his sanctuary like high palaces, like the earth which he hath established for ever. %%% N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna. 19PSA078.070 He chose David also his servant, and took him from the sheepfolds: %%% Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga: 19PSA078.071 From following the ewes great with young he brought him to feed Jacob his people, and Israel his inheritance. %%% Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe. 19PSA078.072 So he fed them according to the integrity of his heart; and guided them by the skilfulness of his hands. %%% Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye. 19PSA079.001 O GOD, the heathen are come into thine inheritance; thy holy temple have they defiled; they have laid Jerusalem on heaps. %%% Ai Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye yeekaalu yo entukuvu; Basudde Yerusaalemi entuumo n'entuumo. 19PSA079.002 The dead bodies of thy servants have they given to be meat unto the fowls of the heaven, the flesh of thy saints unto the beasts of the earth. %%% Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi. 19PSA079.003 Their blood have they shed like water round about Jerusalem; and there was none to bury them. %%% Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi: Ne wataba muntu wa kubaziika. 19PSA079.004 We are become a reproach to our neighbours, a scorn and derision to them that are round about us. %%% Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde. 19PSA079.005 How long, LORD? wilt thou be angry for ever? shall thy jealousy burn like fire? %%% Ai Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro? 19PSA079.006 Pour out thy wrath upon the heathen that have not known thee, and upon the kingdoms that have not called upon thy name. %%% Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo. 19PSA079.007 For they have devoured Jacob, and laid waste his dwelling place. %%% Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye. 19PSA079.008 O remember not against us former iniquities: let thy tender mercies speedily prevent us: for we are brought very low. %%% Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga: Kubanga tujeezebwa nnyo. 19PSA079.009 Help us, O God of our salvation, for the glory of thy name: and deliver us, and purge away our sins, for thy name's sake. %%% Otuyambe, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo: Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo. 19PSA079.010 Wherefore should the heathen say, Where is their God? let him be known among the heathen in our sight by the revenging of the blood of thy servants which is shed. %%% Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika 19PSA079.011 Let the sighing of the prisoner come before thee; according to the greatness of thy power preserve thou those that are appointed to die; %%% Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa; 19PSA079.012 And render unto our neighbours sevenfold into their bosom their reproach, wherewith they have reproached thee, O Lord. %%% Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe Ekivume kye baakuvuma ggwe, ai Mukama. 19PSA079.013 So we thy people and sheep of thy pasture will give thee thanks for ever: we will shew forth thy praise to all generations. %%% Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo Tunaakwebazanga ennaku zonna: Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna. 19PSA080.001 Give ear, O Shepherd of Israel, thou that leadest Joseph like a flock; thou that dwellest between the cherubims, shine forth. %%% Ai Omusumba wa Isiraeri, wulira, Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo; Ggwe atuula wakati wa bakerubi, yakira ddala. 19PSA080.002 Before Ephraim and Benjamin and Manasseh stir up thy strength, and come and save us. %%% Mu maaso ga Efulayimu ne Benyamini ne Manase, kubiriza amaanyi go, Ojje otulokole. 19PSA080.003 Turn us again, O God, and cause thy face to shine; and we shall be saved. %%% Otukyuse nate, ai Katonda; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka. 19PSA080.004 O LORD God of hosts, how long wilt thou be angry against the prayer of thy people? %%% Ai Mukama Katonda ow'eggye, Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo? 19PSA080.005 Thou feedest them with the bread of tears; and givest them tears to drink in great measure. %%% Wabaliisa emmere ey'amaziga, Era wabawa amaziga amangi okunywa. 19PSA080.006 Thou makest us a strife unto our neighbours: and our enemies laugh among themselves. %%% Otufuula oluyombo eri baliraanwa baffe: N'abalabe baffe baseka bokka na bokka. 19PSA080.007 Turn us again, O God of hosts, and cause thy face to shine; and we shall be saved. %%% Otukyuse nate, ai Katonda ow'eggye; Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka. 19PSA080.008 Thou hast brought a vine out of Egypt: thou hast cast out the heathen, and planted it. %%% Waggya omuzabbibu mu Misiri: Wagobamu amawanga, n'ogusimba. 19PSA080.009 Thou preparedst room before it, and didst cause it to take deep root, and it filled the land. %%% Wasaawa mu maaso gaagwo, Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi. 19PSA080.010 The hills were covered with the shadow of it, and the boughs thereof were like the goodly cedars. %%% Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo, N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda. 19PSA080.011 She sent out her boughs unto the sea, and her branches unto the river. %%% Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga. 19PSA080.012 Why hast thou then broken down her hedges, so that all they which pass by the way do pluck her? %%% Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako? 19PSA080.013 The boar out of the wood doth waste it, and the wild beast of the field doth devour it. %%% Embizzi eva mu kibira egunyaga, N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako. 19PSA080.014 Return, we beseech thee, O God of hosts: look down from heaven, and behold, and visit this vine; %%% Okyuke nate, tukwegayiridde, ai Katonda ow'eggye: Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo. 19PSA080.015 And the vineyard which thy right hand hath planted, and the branch that thou madest strong for thyself. %%% N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba, N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi. 19PSA080.016 It is burned with fire, it is cut down: they perish at the rebuke of thy countenance. %%% Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala: Bazikirira amaaso go bwe gabanenya. 19PSA080.017 Let thy hand be upon the man of thy right hand, upon the son of man whom thou madest strong for thyself. %%% Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo, Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi. 19PSA080.018 So will not we go back from thee: quicken us, and we will call upon thy name. %%% Naffe tetulidda nnyuma okukuleka: Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo. 19PSA080.019 Turn us again, O LORD God of hosts, cause thy face to shine; and we shall be saved. %%% Otukyuse, nate, ai Mukama Katonda ow'eggye; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka. 19PSA081.001 Sing aloud unto God our strength: make a joyful noise unto the God of Jacob. %%% Muyimbirenga waggulu Katonda amaanyi gaffe: Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo. 19PSA081.002 Take a psalm, and bring hither the timbrel, the pleasant harp with the psaltery. %%% Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa, Ennanga ennungi era n'amadinda. 19PSA081.003 Blow up the trumpet in the new moon, in the time appointed, on our solemn feast day. %%% Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke, Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga. 19PSA081.004 For this was a statute for Israel, and a law of the God of Jacob. %%% Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri, Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo. 19PSA081.005 This he ordained in Joseph for a testimony, when he went out through the land of Egypt: where I heard a language that I understood not. %%% Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa, Bwe yabuna ensi y'e Misiri: Gye nnawuulira olulimi lwe ssaamanya. 19PSA081.006 I removed his shoulder from the burden: his hands were delivered from the pots. %%% N'aggya ekibegabega kye ku mugugu; Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo. 19PSA081.007 Thou calledst in trouble, and I delivered thee; I answered thee in the secret place of thunder: I proved thee at the waters of Meribah. Selah. %%% Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya; Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka: Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba. (Seera) 19PSA081.008 Hear, O my people, and I will testify unto thee: O Israel, if thou wilt hearken unto me; %%% Muwulire, mmwe abantu bange, nange naabategeeza: Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira! 19PSA081.009 There shall no strange god be in thee; neither shalt thou worship any strange god. %%% Temuubenga katonda munnaggwanga mu ggwe; So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna. 19PSA081.010 I am the LORD thy God, which brought thee out of the land of Egypt: open thy mouth wide, and I will fill it. %%% Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri: Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza. 19PSA081.011 But my people would not hearken to my voice; and Israel would none of me. %%% Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange; So Isiraeri teyanjagala n'akatono. 19PSA081.012 So I gave them up unto their own hearts' lust: and they walked in their own counsels. %%% Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo. 19PSA081.013 Oh that my people had hearkened unto me, and Israel had walked in my ways! %%% Singa abantu bange bakkiriza okumpulira, Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange! 19PSA081.014 I should soon have subdued their enemies, and turned my hand against their adversaries. %%% Nandiwangudde mangu abalabe baabwe, Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo. 19PSA081.015 The haters of the LORD should have submitted themselves unto him: but their time should have endured for ever. %%% Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde: Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna. 19PSA081.016 He should have fed them also with the finest of the wheat: and with honey out of the rock should I have satisfied thee. %%% Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano: Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja. 19PSA082.001 God standeth in the congregation of the mighty; he judgeth among the gods. %%% Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda; Asala emisango mu bakatonda. 19PSA082.002 How long will ye judge unjustly, and accept the persons of the wicked? Selah. %%% Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi? (Seera) 19PSA082.003 Defend the poor and fatherless: do justice to the afflicted and needy. %%% Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe: Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu. 19PSA082.004 Deliver the poor and needy: rid them out of the hand of the wicked. %%% Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga: Mubalokolenga mu mukono gw'omubi. 19PSA082.005 They know not, neither will they understand; they walk on in darkness: all the foundations of the earth are out of course. %%% Tebamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza: Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana. 19PSA082.006 I have said, Ye are gods; and all of you are children of the most High. %%% Nayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo. 19PSA082.007 But ye shall die like men, and fall like one of the princes. %%% Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira. 19PSA082.008 Arise, O God, judge the earth: for thou shalt inherit all nations. %%% Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango: Kubanga olisikira amawanga gonna. 19PSA083.001 Keep not thou silence, O God: hold not thy peace, and be not still, O God. %%% Ai Katonda, tosirika nate: Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda. 19PSA083.002 For, lo, thine enemies make a tumult: and they that hate thee have lifted up the head. %%% Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana: N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe. 19PSA083.003 They have taken crafty counsel against thy people, and consulted against thy hidden ones. %%% Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke. 19PSA083.004 They have said, Come, and let us cut them off from being a nation; that the name of Israel may be no more in remembrance. %%% Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate. 19PSA083.005 For they have consulted together with one consent: they are confederate against thee: %%% Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe: 19PSA083.006 The tabernacles of Edom, and the Ishmaelites; of Moab, and the Hagarenes; %%% Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale; 19PSA083.007 Gebal, and Ammon, and Amalek; the Philistines with the inhabitants of Tyre; %%% Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo: 19PSA083.008 Assur also is joined with them: they have holpen the children of Lot. Selah. %%% Era n'Obwasuli bwegasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti. (Seera) 19PSA083.009 Do unto them as unto the Midianites; as to Sisera, as to Jabin, at the brook of Kison: %%% Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni; 19PSA083.010 Which perished at Endor: they became as dung for the earth. %%% Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni; 19PSA083.011 Make their nobles like Oreb, and like Zeeb: yea, all their princes as Zebah, and as Zalmunna: %%% Abakungu baabwe obafaananye nga Olebu ne Zeebu; Weewaawo, abalangira baabwe bonna nga Zeba ne Zalumunna: 19PSA083.012 Who said, Let us take to ourselves the houses of God in possession. %%% Abaayogera nti Twetwalire fekka Ennyumba za Katonda tuzirye. 19PSA083.013 O my God, make them like a wheel; as the stubble before the wind. %%% Ai Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu; Ng'ebisasiro empewo bye zitwala. 19PSA083.014 As the fire burneth a wood, and as the flame setteth the mountains on fire; %%% Ng'omuliro ogwokya ekibira, Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi; 19PSA083.015 So persecute them with thy tempest, and make them afraid with thy storm. %%% Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo, Era obatiise n'empewo zo. 19PSA083.016 Fill their faces with shame; that they may seek thy name, O LORD. %%% Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira; Banoonyenga erinnya lyo, ai Mukama. 19PSA083.017 Let them be confounded and troubled for ever; yea, let them be put to shame, and perish: %%% Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga: 19PSA083.018 That men may know that thou, whose name alone is JEHOVAH, art the most high over all the earth. %% Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna. 19PSA084.001 How amiable are thy tabernacles, O LORD of hosts! %%% Eweema zo nga nnungi, Ai Mukama ow'eggye. 19PSA084.002 My soul longeth, yea, even fainteth for the courts of the LORD: my heart and my flesh crieth out for the living God. %%% Emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw'empya za Mukama; Omutima gwange n'omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu. 19PSA084.003 Yea, the sparrow hath found an house, and the swallow a nest for herself, where she may lay her young, even thine altars, O LORD of hosts, my King, and my God. %%% Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, ai Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange. 19PSA084.004 Blessed are they that dwell in thy house: they will be still praising thee. Selah. %%% Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo: Banaakutenderezanga. (Seera) 19PSA084.005 Blessed is the man whose strength is in thee; in whose heart are the ways of them. %%% Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe. 19PSA084.006 Who passing through the valley of Baca make it a well; the rain also filleth the pools. %%% Nga bayita mu kiwonvu eky'amaziga bakifuula ekifo eky'ensulo; Weewaawo, ddumbi akibikkako n'omukisa. 19PSA084.007 They go from strength to strength, every one of them in Zion appeareth before God. %%% Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni. 19PSA084.008 O LORD God of hosts, hear my prayer: give ear, O God of Jacob. Selah. %%% Ai Mukama Katonda ow'eggye, wulira okusaba kwange: Otege okutu, ai Katonda wa Yakobo. (Seera) 19PSA084.009 Behold, O God our shield, and look upon the face of thine anointed. %%% Tunula, ai Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta. 19PSA084.010 For a day in thy courts is better than a thousand. I had rather be a doorkeeper in the house of my God, than to dwell in the tents of wickedness. %%% Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi. 19PSA084.011 For the LORD God is a sun and shield: the LORD will give grace and glory: no good thing will he withhold from them that walk uprightly. %%% Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa: Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza. 19PSA084.012 O LORD of hosts, blessed is the man that trusteth in thee. %%% Ai Mukama ow'eggye, Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe. 19PSA085.001 Lord, thou hast been favourable unto thy land: thou hast brought back the captivity of Jacob. %%% Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa: Wazza obusibe bwa Yakobo. 19PSA085.002 Thou hast forgiven the iniquity of thy people, thou hast covered all their sin. Selah. %%% Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo, Wabikka ku kibi kyabwe kyonna. (Seera) 19PSA085.003 Thou hast taken away all thy wrath: thou hast turned thyself from the fierceness of thine anger. %%% Waggyawo obusungu bwo bwonna: Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe: 19PSA085.004 Turn us, O God of our salvation, and cause thine anger toward us to cease. %%% Otukyuse, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe. Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe. 19PSA085.005 Wilt thou be angry with us for ever? wilt thou draw out thine anger to all generations? %%% Onootuusunguwaliranga ennaku zonna? Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna? 19PSA085.006 Wilt thou not revive us again: that thy people may rejoice in thee? %%% Tolituzuukiza nate, Abantu bo bakusanyukirenga ggwe? 19PSA085.007 Shew us thy mercy, O LORD, and grant us thy salvation. %%% Otulage okusaasira kwo, ai Mukama, Otuwe obulokozi bwo. 19PSA085.008 I will hear what God the LORD will speak: for he will speak peace unto his people, and to his saints: but let them not turn again to folly. %%% Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera: Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be: Naye baleme okukyama nate mu busirusiru. 19PSA085.009 Surely his salvation is nigh them that fear him; that glory may dwell in our land. %%% Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe. 19PSA085.010 Mercy and truth are met together; righteousness and peace have kissed each other. %%% Okusaasira n'amazima birabaganye; Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye. 19PSA085.011 Truth shall spring out of the earth; and righteousness shall look down from heaven. %%% Amazima galose mu ttaka; N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu. 19PSA085.012 Yea, the LORD shall give that which is good; and our land shall yield her increase. %%% Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo. 19PSA085.013 Righteousness shall go before him; and shall set us in the way of his steps. %%% Obutuukirivu bunaamukulemberanga; Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo. 19PSA086.001 Bow down thine ear, O LORD, hear me: for I am poor and needy. %%% Otege okutu kwo, ai Mukama, onziremu; Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu. 19PSA086.002 Preserve my soul; for I am holy: O thou my God, save thy servant that trusteth in thee. %%% Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda: Ai ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga. 19PSA086.003 Be merciful unto me, O Lord: for I cry unto thee daily. %%% Onsaasire, ai Mukama; Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde. 19PSA086.004 Rejoice the soul of thy servant: for unto thee, O Lord, do I lift up my soul. %%% Osanyuse emmeeme y'omuddu wo; Kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe, ai Mukama. 19PSA086.005 For thou, Lord, art good, and ready to forgive; and plenteous in mercy unto all them that call upon thee. %%% Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola. 19PSA086.006 Give ear, O LORD, unto my prayer; and attend to the voice of my supplications. %%% Otege okutu, ai Mukama, eri okusaba kwange; Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange. 19PSA086.007 In the day of my trouble I will call upon thee: for thou wilt answer me. %%% Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola; Kubanga olinziramu. 19PSA086.008 Among the gods there is none like unto thee, O Lord; neither are there any works like unto thy works. %%% Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, ai Mukama; So tewali bikolwa ebiri ng'ebibyo. 19PSA086.009 All nations whom thou hast made shall come and worship before thee, O Lord; and shall glorify thy name. %%% Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, ai Mukama; Era galigulumiza erinnya lyo. 19PSA086.010 For thou art great, and doest wondrous things: thou art God alone. %%% Kubanga ggwe mukulu, era okola eby'ekitalo: Ggwe Katonda wekka. 19PSA086.011 Teach me thy way, O LORD; I will walk in thy truth: unite my heart to fear thy name. %%% Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go: Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo. 19PSA086.012 I will praise thee, O Lord my God, with all my heart: and I will glorify thy name for evermore. %%% Naakutenderezanga, ai Mukama Katonda wange, n'omutima gwange gwonna; Era naagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna. 19PSA086.013 For great is thy mercy toward me: and thou hast delivered my soul from the lowest hell. %%% Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo. 19PSA086.014 O God, the proud are risen against me, and the assemblies of violent men have sought after my soul; and have not set thee before them. %%% Ai Katonda, ab'amalala bangolokokeddeko, N'ekibiina eky'abatemu banoonyezza emmeeme yange, So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe. 19PSA086.015 But thou, O Lord, art a God full of compassion, and gracious, long suffering, and plenteous in mercy and truth. %%% Naye ggwe, ai Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi. 19PSA086.016 O turn unto me, and have mercy upon me; give thy strength unto thy servant, and save the son of thine handmaid. %%% Onkyukire, onsaasire; Owe omuddu wo amaanyi go, Olokole omwana w'omuzaana wo. 19PSA086.017 Shew me a token for good; that they which hate me may see it, and be ashamed: because thou, LORD, hast holpen me, and comforted me. %%% Ondage akabonero olw'obulungi; Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi. Kubanga ggwe, ai Mukama, onnyambye, era onsanyusizza. 19PSA087.001 His foundation is in the holy mountains. %%% Emisingi gye giri ku nsozi entukuvu. 19PSA087.002 The LORD loveth the gates of Zion more than all the dwellings of Jacob. %%% Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni Okusinga ennyumba zonna eza Yakobo. 19PSA087.003 Glorious things are spoken of thee, O city of God. Selah. %%% Eby'ekitiibwa bikwogerwako, Ggwe ekibuga kya Katonda. (Seera) 19PSA087.004 I will make mention of Rahab and Babylon to them that know me: behold Philistia, and Tyre, with Ethiopia; this man was born there. %%% Ndyogera ku Lakabu ne Babulooni nga bali mu abo abammanyi: Laba Firisutiya, ne Ttuulo, ne Esiyoopya; Oyo Yazaalirwa omwo. 19PSA087.005 And of Zion it shall be said, This and that man was born in her: and the highest himself shall establish her. %%% Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti Gundi ne gundi baazaalirwa omwo; N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini. 19PSA087.006 The LORD shall count, when he writeth up the people, that this man was born there. Selah. %%% Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga, Nti Gundi yazaalirwa omwo. (Seera) 19PSA087.007 As well the singers as the players on instruments shall be there: all my springs are in thee. %%% Abayimba era n'abo abazina (balyogera nti) Ensulo zange zonna ziri mu ggwe. 19PSA088.001 O LORD God of my salvation, I have cried day and night before thee: %%% Ai Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Naakaabiranga emisana n'ekiro mu maaso go: 19PSA088.002 Let my prayer come before thee: incline thine ear unto my cry; %%% Okusaba kwange kuyingire w'oli; Otege okutu kwo eri okukaaba kwange: 19PSA088.003 For my soul is full of troubles: and my life draweth nigh unto the grave. %%% Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku, N'obulamu bwange busemberera e magombe. 19PSA088.004 I am counted with them that go down into the pit: I am as a man that hath no strength: %%% Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya; Nninga omuntu atalina mubeezi: 19PSA088.005 Free among the dead, like the slain that lie in the grave, whom thou rememberest no more: and they are cut off from thy hand. %%% Asuulibwa mu bafu, Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana, B'otojjukira nate; Era bayawukana n'omukono gwo. 19PSA088.006 Thou hast laid me in the lowest pit, in darkness, in the deeps. %%% Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo, Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba. 19PSA088.007 Thy wrath lieth hard upon me, and thou hast afflicted me with all thy waves. Selah. %%% Obusungu bwo bunyigiriza nnyo, Era ombonyabonyezza n'amayengo go gonna. (Seera) 19PSA088.008 Thou hast put away mine acquaintance far from me; thou hast made me an abomination unto them: I am shut up, and I cannot come forth. %%% Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi; Onfudde ekitama eri abo: Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu. 19PSA088.009 Mine eye mourneth by reason of affliction: LORD, I have called daily upon thee, I have stretched out my hands unto thee. %%% Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala: Nkukaabira buli lunaku, ai Mukama, Ntega engalo zange eri ggwe. 19PSA088.010 Wilt thou shew wonders to the dead? shall the dead arise and praise thee? Selah. %%% Oliraga abafu eby'amagero? Abaafa baligolokoka balikutendereza? (Seera) 19PSA088.011 Shall thy lovingkindness be declared in the grave? or thy faithfulness in destruction? %%% Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe? N'obwesigwa bwo mu kuzikirira? 19PSA088.012 Shall thy wonders be known in the dark? and thy righteousness in the land of forgetfulness? %%% Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza? N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira? 19PSA088.013 But unto thee have I cried, O LORD; and in the morning shall my prayer prevent thee. %%% Naye ggwe, ai Mukama, gwe nkaabira, Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go. 19PSA088.014 LORD, why castest thou off my soul? why hidest thou thy face from me? %%% Mukama, kiki ekikusuuza emmeeme yange? Kiki ekikunkwesa amaaso go? 19PSA088.015 I am afflicted and ready to die from my youth up: while I suffer thy terrors I am distracted. %%% Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange: Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo. 19PSA088.016 Thy fierce wrath goeth over me; thy terrors have cut me off. %%% Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko; Entiisa zo zinzingizizza. 19PSA088.017 They came round about me daily like water; they compassed me about together. %%% Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde; Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu. 19PSA088.018 Lover and friend hast thou put far from me, and mine acquaintance into darkness. %%% Abanjagala ne mikwano gyange obaawukanyizza wala nange, N'abo be mmanyi mu kizikiza. 19PSA089.001 I will sing of the mercies of the LORD for ever: with my mouth will I make known thy faithfulness to all generations. %%% Naayimbanga ku kusaasira kwa Mukama ennaku zonna: N'akamwa kange naategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo. 19PSA089.002 For I have said, Mercy shall be built up for ever: thy faithfulness shalt thou establish in the very heavens. %%% Kubanga njogedde nti Okusaasira kunaanywezebwanga okutuusa emirembe n'emirembe; Era ne mu ggulu onoosimbanga obwesiswa bwo. 19PSA089.003 I have made a covenant with my chosen, I have sworn unto David my servant, %%% Ndagaanye endagaano n'abalonde bange, Ndayiridde Dawudi amuddu wange; 19PSA089.004 Thy seed will I establish for ever, and build up thy throne to all generations. Selah. %%% Ezzedde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna, N'entebe yo naagizimbiranga ddala emirembe gyonna. (Seera) 19PSA089.005 And the heavens shall praise thy wonders, O LORD: thy faithfulness also in the congregation of the saints. %%% N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, ai Mukama; Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu. 19PSA089.006 For who in the heaven can be compared unto the LORD? who among the sons of the mighty can be likened unto the LORD? %%% Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama? Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama. 19PSA089.007 God is greatly to be feared in the assembly of the saints, and to be had in reverence of all them that are about him. %%% Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu, Agwaana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola? 19PSA089.008 O LORD God of hosts, who is a strong LORD like unto thee? or to thy faithfulness round about thee? %%% Ai Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, ai YA? N'obwesigwa bwo bukwetooloola. 19PSA089.009 Thou rulest the raging of the sea: when the waves thereof arise, thou stillest them. %%% Ggwe ofuga amalala g'ennyanja: Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa. 19PSA089.010 Thou hast broken Rahab in pieces, as one that is slain; thou hast scattered thine enemies with thy strong arm. %%% Wamenyaamenya Lakabu ng'omuntu attibwa; Wasaasaanya abalabe bo n'omukono ogw'amaanyi go. 19PSA089.011 The heavens are thine, the earth also is thine: as for the world and the fulness thereof, thou hast founded them. %%% Eggulu liryo, era n'ensi yiyo: Ebintu byonna n'okujjula kwabyo wabiteekawo. 19PSA089.012 The north and the south thou hast created them: Tabor and Hermon shall rejoice in thy name. %%% Obukiika obwa kkono n'obwa ddyo wabutonda: Taboli ne Kerumooni zisanyukira erinnya lyo. 19PSA089.013 Thou hast a mighty arm: strong is thy hand, and high is thy right hand. %%% Olina omukono ogw'amaanyi: Engalo zo za maanyi, n'omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa. 19PSA089.014 Justice and judgment are the habitation of thy throne: mercy and truth shall go before thy face. %%% Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo: Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go. 19PSA089.015 Blessed is the people that know the joyful sound: they shall walk, O LORD, in the light of thy countenance. %%% Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu: Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go. 19PSA089.016 In thy name shall they rejoice all the day: and in thy righteousness shall they be exalted. %%% Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde; Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo. 19PSA089.017 For thou art the glory of their strength: and in thy favour our horn shall be exalted. %%% Kubanga ggwe oli kitiibwa ky’amaanyi gaabwe: N'olw'ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga. 19PSA089.018 For the LORD is our defence; and the Holy One of Israel is our king. %%% Kubanga Mukama ye nannyini ngabo yaffe; Era Omutukuvu wa Isiraeri ye nannyini kabaka waffe. 19PSA089.019 Then thou spakest in vision to thy holy one, and saidst, I have laid help upon one that is mighty; I have exalted one chosen out of the people. %%% Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa, N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi; Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu. 19PSA089.020 I have found David my servant; with my holy oil have I anointed him: %%% Ndabye Dawudi omuddu wange; Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu: 19PSA089.021 With whom my hand shall be established: mine arm also shall strengthen him. %%% Engalo zange zinaanywezebwanga gy'ali; N'omukono gwange gunaamuwanga amaanyi. 19PSA089.022 The enemy shall not exact upon him; nor the son of wickedness afflict him. %%% Omulabe taamujoogenga: Newakubadde omwana w'obubi taamubonyeebonyenga. 19PSA089.023 And I will beat down his foes before his face, and plague them that hate him. %%% Nange naasuulanga abanaalwananga naye mu maaso ge, Era naakubanga abanaamukyawanga. 19PSA089.024 But my faithfulness and my mercy shall be with him: and in my name shall his horn be exalted. %%% Naye obwesigwa bwange n'okusaasira kwange binaabanga naye; Ne mu linnya lyange ejjembe lye linaagulumizibwanga. 19PSA089.025 I will set his hand also in the sea, and his right hand in the rivers. %%% Era naateekanga omukono gwe ku nnyanja, N'omukono gwe ogwa ddyo ku migga. 19PSA089.026 He shall cry unto me, Thou art my father, my God, and the rock of my salvation. %%% Anankaabiranga nti Ggwe kitange, Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange. 19PSA089.027 Also I will make him my firstborn, higher than the kings of the earth. %%% Era ndimufuula omubereberye wange, Asinga bakabaka ab'ensi. 19PSA089.028 My mercy will I keep for him for evermore, and my covenant shall stand fast with him. %%% Naamuterekeranga okusaasira kwange emirembe n'emirembe, N'endagaano yange eneenyweranga gy'ali. 19PSA089.029 His seed also will I make to endure for ever, and his throne as the days of heaven. %%% Era naawangaazanga ezzadde lye emirembe gyonna, N'entebe ye ng'ennaku ez'eggulu. 19PSA089.030 If his children forsake my law, and walk not in my judgments; %%% Abaana be bwe banaalekanga amateeka gange, Ne batatambuliranga mu misango gyange; 19PSA089.031 If they break my statutes, and keep not my commandments; %%% Bwe banaanyoomanga ebiragiro byange, Ne batakwatanga mateeka gange; 19PSA089.032 Then will I visit their transgression with the rod, and their iniquity with stripes. %%% Nange najjiranga okwonoona kwabwe n'omuggo, N'obutali butuukirivu bwabwe n'okukuba. 19PSA089.033 Nevertheless my lovingkindness will I not utterly take from him, nor suffer my faithfulness to fail. %%% Naye siimuggirengako ddala kusaasira kwange, So siiganyenga bwesigwa bwange okuweebuuka. 19PSA089.034 My covenant will I not break, nor alter the thing that is gone out of my lips. %%% Siimenyenga ndagaano yange, Sijjululenga kigambo ekyava mu mimwa gyange. 19PSA089.035 Once have I sworn by my holiness that I will not lie unto David. %%% Omulundi gumu nalayira obutuukirivu bwange; Siimulimbenga Dawudi. 19PSA089.036 His seed shall endure for ever, and his throne as the sun before me. %%% Ezzadde lye linaabeereranga emirembe gyonna, N'entebe ye ng'enjuba mu maaso gange. 19PSA089.037 It shall be established for ever as the moon, and as a faithful witness in heaven. Selah. %%% Eneenywezebwanga ennaku zonna ng'omwezi, Era ng'omujulirwa omwesigwa mu ggulu. (Seera) 19PSA089.038 But thou hast cast off and abhorred, thou hast been wroth with thine anointed. %%% Naye wasuula n'ogoba N'osunguwalira oyo gwe wafukako amafuta. 19PSA089.039 Thou hast made void the covenant of thy servant: thou hast profaned his crown by casting it to the ground. %%% Wakyawa endagaano ey'omuddu wo. Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi. 19PSA089.040 Thou hast broken down all his hedges; thou hast brought his strong holds to ruin. %%% Wamenyaamenya enkomera ze zonna; Wayabya ebigo bye. 19PSA089.041 All that pass by the way spoil him: he is a reproach to his neighbours. %%% Bonna abayita mu kkubo bamunyaga: Afuuse ekivume eri baliraanwa be. 19PSA089.042 Thou hast set up the right hand of his adversaries; thou hast made all his enemies to rejoice. %%% Ogulumizizza omukono ogwa ddyo ogw'abalabe be; Osanyusizza abamukyaye bonna. 19PSA089.043 Thou hast also turned the edge of his sword, and hast not made him to stand in the battle. %%% Weewaawo, okyamizza obwogi bw'ekitala kye, So tomuyimirizizza mu lutalo. 19PSA089.044 Thou hast made his glory to cease, and cast his throne down to the ground. %%% Omazeewo okumasamasa kwe, N'osuulira ddala entebe ye wansi. 19PSA089.045 The days of his youth hast thou shortened: thou hast covered him with shame. Selah. %%% Osaze ku nnaku ez'obuvubuka bwe: Omubisseeko ensonyi. (Seera) 19PSA089.046 How long, LORD? wilt thou hide thyself for ever? shall thy wrath burn like fire? %%% Olituusa wa, ai Mukama, okwekwekanga ennaku zonna? Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro? 19PSA089.047 Remember how short my time is: wherefore hast thou made all men in vain? %%% Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono: Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu! 19PSA089.048 What man is he that liveth, and shall not see death? shall he deliver his soul from the hand of the grave? Selah. %%% Omuntu aluwa aliba omulamu ataliraba kufa, Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe? (Seera) 19PSA089.049 Lord, where are thy former lovingkindnesses, which thou swarest unto David in thy truth? %%% Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa, Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo? 19PSA089.050 Remember, Lord, the reproach of thy servants; how I do bear in my bosom the reproach of all the mighty people; %%% Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa; Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi; 19PSA089.051 Wherewith thine enemies have reproached, O LORD; wherewith they have reproached the footsteps of thine anointed. %%% Abalabe bo kye bavuma, ai Mukama, Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta. 19PSA089.052 Blessed be the LORD for evermore. Amen, and Amen. %%% Mukama yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina. 19PSA090.001 Lord, thou hast been our dwelling place in all generations. %%% Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky'okutuulamu Mu mirembe gyonna. 19PSA090.002 Before the mountains were brought forth, or ever thou hadst formed the earth and the world, even from everlasting to everlasting, thou art God. %%% Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda. 19PSA090.003 Thou turnest man to destruction; and sayest, Return, ye children of men. %%% Osindika abantu mu kuzikirira; Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b'abantu. 19PSA090.004 For a thousand years in thy sight are but as yesterday when it is past, and as a watch in the night. %%% Kubanga emyaka olukumi mu maaso go Giri ng'olwajjo olwayita, Era ng'ekisisimuka ky'ekiro. 19PSA090.005 Thou carriest them away as with a flood; they are as a sleep: in the morning they are like grass which groweth up. %%% Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng'otulo: Enkya bali ng'omuddo ogumera. 19PSA090.006 In the morning it flourisheth, and groweth up; in the evening it is cut down, and withereth. %%% Enkya guloka, gumera; Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose. 19PSA090.007 For we are consumed by thine anger, and by thy wrath are we troubled. %%% Kubanga obusungu bwo butumalawo, Era bw'onyiiga ne tweraliikirira. 19PSA090.008 Thou hast set our iniquities before thee, our secret sins in the light of thy countenance. %%% Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go. 19PSA090.009 For all our days are passed away in thy wrath: we spend our years as a tale that is told. %%% Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo; Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo. 19PSA090.010 The days of our years are threescore years and ten; and if by reason of strength they be fourscore years, yet is their strength labour and sorrow; for it is soon cut off, and we fly away. %%% Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula. 19PSA090.011 Who knoweth the power of thine anger? even according to thy fear, so is thy wrath. %%% Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo, N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa? 19PSA090.012 So teach us to number our days, that we may apply our hearts unto wisdom. %%% Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, Tulyoke tufune omutima omugezigezi. 19PSA090.013 Return, O LORD, how long? and let it repent thee concerning thy servants. %%% Okomewo, ai Mukama; olituusa wa? Era wejjuse mu bigambo eby'abaddu bo. 19PSA090.014 O satisfy us early with thy mercy; that we may rejoice and be glad all our days. %%% Otukkuse enkya n'okusaasira kwo; Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna. 19PSA090.015 Make us glad according to the days wherein thou hast afflicted us, and the years wherein we have seen evil. %%% Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi. 19PSA090.016 Let thy work appear unto thy servants, and thy glory unto their children. %%% Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe. 19PSA090.017 And let the beauty of the LORD our God be upon us: and establish thou the work of our hands upon us; yea, the work of our hands establish thou it. %%% Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe. 19PSA091.001 He that dwelleth in the secret place of the most High shall abide under the shadow of the Almighty. %%% Atuula mu kifo eky'ekyama eky'oyo ali waggluu ennyo Ye anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna. 19PSA091.002 I will say of the LORD, He is my refuge and my fortress: my God; in him will I trust. %%% Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga. 19PSA091.003 Surely he shall deliver thee from the snare of the fowler, and from the noisome pestilence. %%% Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'omuyizzi, Ne mu kawumpuli omubi. 19PSA091.004 He shall cover thee with his feathers, and under his wings shalt thou trust: his truth shall be thy shield and buckler. %%% Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye, Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga: Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma. 19PSA091.005 Thou shalt not be afraid for the terror by night; nor for the arrow that flieth by day; %%% Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akagenda emisana; 19PSA091.006 Nor for the pestilence that walketh in darkness; nor for the destruction that wasteth at noonday. %%% Olw'olumbe olutambulira mu kizikiza, Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu. 19PSA091.007 A thousand shall fall at thy side, and ten thousand at thy right hand; but it shall not come nigh thee. %%% Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo, Era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo; Tekulikusemberera ggwe. 19PSA091.008 Only with thine eyes shalt thou behold and see the reward of the wicked. %%% Naye olitunula n'amaaso go, Oliraba empeera y'ababi. 19PSA091.009 Because thou hast made the LORD, which is my refuge, even the most High, thy habitation; %%% Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula; 19PSA091.010 There shall no evil befall thee, neither shall any plague come nigh thy dwelling. %%% Tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo. 19PSA091.011 For he shall give his angels charge over thee, to keep thee in all thy ways. %%% Kubanga alikulagiririza bamalayika be, Bakukuume mu makubo go gonna. 19PSA091.012 They shall bear thee up in their hands, lest thou dash thy foot against a stone. %%% Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja. 19PSA091.013 Thou shalt tread upon the lion and adder: the young lion and the dragon shalt thou trample under feet. %%% Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo. 19PSA091.014 Because he hath set his love upon me, therefore will I deliver him: I will set him on high, because he hath known my name. %%% Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange. 19PSA091.015 He shall call upon me, and I will answer him: I will be with him in trouble; I will deliver him, and honour him. %%% Alinkaabira, nange ndimuyita; Naabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa. 19PSA091.016 With long life will I satisfy him, and shew him my salvation. %%% Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, Era ndimulaga obulokozi bwange. 19PSA092.001 IT IS A GOOD THING TO GIVE THANKS UNTO THE LORD, AND TO SING PRAISES UNTO THY NAME, O MOST HIGH: %%% Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo: 19PSA092.002 To shew forth thy lovingkindness in the morning, and thy faithfulness every night, %%% Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro. 19PSA092.003 Upon an instrument of ten strings, and upon the psaltery; upon the harp with a solemn sound. %%% N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi, era n'amadinda: N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga. 19PSA092.004 For thou, LORD, hast made me glad through thy work: I will triumph in the works of thy hands. %%% Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo. 19PSA092.005 O LORD, how great are thy works! and thy thoughts are very deep. %%% Emirimu gyo nga mikulu, ai Mukama Ebirowoozo byo bya buziba nnyo. 19PSA092.006 A brutish man knoweth not; neither doth a fool understand this. %%% Omuntu ali ng'ensolo tamanyi kino, So nga n'omusirusiru takitegeera: 19PSA092.007 When the wicked spring as the grass, and when all the workers of iniquity do flourish; it is that they shall be destroyed for ever: %%% Ababi bwe baloka ng'omuddo, Era abakozi b'obubi bonna bwe babeera; Kyebava beera bazikirizibwe emirembe gyonna: 19PSA092.008 But thou, LORD, art most high for evermore. %%% Naye ggwe, ai Mukama, ogulumizibwanga emirembe n'emirembe. 19PSA092.009 For, lo, thine enemies, O LORD, for, lo, thine enemies shall perish; all the workers of iniquity shall be scattered. %%% Kubanga, laba, abalabe bo, ai Mukama, Kubanga, laba, abalabe bo balizikirira; Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa. 19PSA092.010 But my horn shalt thou exalt like the horn of an unicorn: I shall be anointed with fresh oil. %%% Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo: Nfukiddwako amafuta amaggya. 19PSA092.011 Mine eye also shall see my desire on mine enemies, and mine ears shall hear my desire of the wicked that rise up against me. %%% Era eriiso lyange Lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange, Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako. 19PSA092.012 The righteous shall flourish like the palm tree: he shall grow like a cedar in Lebanon. %%% Omutuukirivu alyera ng'olukindu; Alikula ng'omuvule mu Lebanooni. 19PSA092.013 Those that be planted in the house of the LORD shall flourish in the courts of our God. %%% Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Balyerera mu mpya za Katonda waffe. 19PSA092.014 They shall still bring forth fruit in old age; they shall be fat and flourishing; %%% Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; Balijjula amazzi, baligejja: 19PSA092.015 To shew that the LORD is upright: he is my rock, and there is no unrighteousness in him. %%% Balage nga Mukama mutuukirivu; Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu. 19PSA093.001 The LORD reigneth, he is clothed with majesty; the LORD is clothed with strength, wherewith he hath girded himself: the world also is stablished, that it cannot be moved. %%% Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi enywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana. 19PSA093.002 Thy throne is established of old: thou art from everlasting. %%% Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna: Obeererawo okuva emirembe n'emirembe. 19PSA093.003 The floods have lifted up, O LORD, the floods have lifted up their voice; the floods lift up their waves. %%% Amazzi gayimusizza, Ai Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago. 19PSA093.004 The LORD on high is mightier than the noise of many waters, yea, than the mighty waves of the sea. %%% Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi, Amayengo amanene ag'oku nnyanja, Mukama ali waggulu asinza amaanyi. 19PSA093.005 Thy testimonies are very sure: holiness becometh thine house, O LORD, for ever. %%% Bye wategeeza bya mazima ddala: Obutukuvu busaanira emmyumba yo, Ai Mukama, emirembe n'emirembe. 19PSA094.001 O Lord God, to whom vengeance belongeth; O God, to whom vengeance belongeth, shew thyself. %%% Ai Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana, Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala. 19PSA094.002 Lift up thyself, thou judge of the earth: render a reward to the proud. %%% Weeyimuse, ggwe asalira ensi emisango: Owe ab'amalala ebibagwanira. 19PSA094.003 LORD, how long shall the wicked, how long shall the wicked triumph? %%% Mukama, ababi balituusa wa, Ababi balituusa wa okuwangula? 19PSA094.004 How long shall they utter and speak hard things? and all the workers of iniquity boast themselves? %%% Boogera ebitaliimu, n'eby'amalala: Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna. 19PSA094.005 They break in pieces thy people, O LORD, and afflict thine heritage. %%% Bamenyaamenya abantu bo, ai Mukama, Era babonyaabonya obusika bwo. 19PSA094.006 They slay the widow and the stranger, and murder the fatherless. %%% Batta nnamwandu ne munnaggwanga, Era batta atalina kitaawe. 19PSA094.007 Yet they say, The LORD shall not see, neither shall the God of Jacob regard it. %%% Ne boogera nti Mukama taalabe, So Katonda wa Yakobo taalowooze. 19PSA094.008 Understand, ye brutish among the people: and ye fools, when will ye be wise? %%% Mulowooze, mmwe abali ng'ensolo mu bantu: Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi? 19PSA094.009 He that planted the ear, shall he not hear? he that formed the eye, shall he not see? %%% Eyateekawo okutu, taliwulira? Eyabumba eriiso, taliraba? 19PSA094.010 He that chastiseth the heathen, shall not he correct? he that teacheth man knowledge, shall not he know? %%% Abonereza amawanga, talikangavvula, Ayigiriza abantu amagezi? 19PSA094.011 The LORD knoweth the thoughts of man, that they are vanity. %%% Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu, Nga mukka. 19PSA094.012 Blessed is the man whom thou chastenest, O LORD, and teachest him out of thy law; %%% Alina omukisa omuntu gw'obonereza, ai Mukama, Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go; 19PSA094.013 That thou mayest give him rest from the days of adversity, until the pit be digged for the wicked. %%% Olyoke omuwummuze aleme okulaba ebiro eby'ennaku, Okutuusa obunnya lwe bulisimirwa ababi. 19PSA094.014 For the LORD will not cast off his people, neither will he forsake his inheritance. %%% Kubanga Mukama talisuula bantu be, So talireka busika bwe. 19PSA094.015 But judgment shall return unto righteousness: and all the upright in heart shall follow it. %%% Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu: Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera. 19PSA094.016 Who will rise up for me against the evildoers? or who will stand up for me against the workers of iniquity? %%% Ani anangolokokera ku abo abakola obubi? Ani anannyimiririra ku bakozi b'ebitali bya butuukirivu? 19PSA094.017 Unless the LORD had been my help, my soul had almost dwelt in silence. %%% Singa Mukama teyali mubeezi wange, Emmeeme yange yanditudde mangu awali okusirika. 19PSA094.018 When I said, My foot slippeth; thy mercy, O LORD, held me up. %%% Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira. 19PSA094.019 In the multitude of my thoughts within me thy comforts delight my soul. %%% Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange. 19PSA094.020 Shall the throne of iniquity have fellowship with thee, which frameth mischief by a law? %%% Abafuga ababi balissa ekimu naawe, Abalagira eby'ettima mu mateeka? 19PSA094.021 They gather themselves together against the soul of the righteous, and condemn the innocent blood. %%% Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu, Ne basala omusango okusinga omusaayi ogutaliiko kabi. 19PSA094.022 But the LORD is my defence; and my God is the rock of my refuge. %%% Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu; Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna. 19PSA094.023 And he shall bring upon them their own iniquity, and shall cut them off in their own wickedness; yea, the LORD our God shall cut them off. %%% Era abaleeseeko obutali butuukirivu bwabwe bo, Era alibazikiriza mu bubi bwabwe; Mukama Katonda waffe alibazikiriza. 19PSA095.001 O come, let us sing unto the LORD: let us make a joyful noise to the rock of our salvation. %%% Mujje, tuyimbire Mukama: Tuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe. 19PSA095.002 Let us come before his presence with thanksgiving, and make a joyful noise unto him with psalms. %%% Tujje mu maaso ge n'okwebaza, Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli. 19PSA095.003 For the LORD is a great God, and a great King above all gods. %%% Kubanga Mukama ye Katonda omukulu, Era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna. 19PSA095.004 In his hand are the deep places of the earth: the strength of the hills is his also. %%% Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe; N'entikko z'ensozi nazo zizze. 19PSA095.005 The sea is his, and he made it: and his hands formed the dry land. %%% Ennyanja yiye, era yagikola; N'emikono gye gye gyabumba olukalu. 19PSA095.006 O come, let us worship and bow down: let us kneel before the LORD our maker. %%% Mujje, tusinze, tuvuuname; Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe: 19PSA095.007 For he is our God; and we are the people of his pasture, and the sheep of his hand. To day if ye will hear his voice, %%% Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye, 19PSA095.008 Harden not your heart, as in the provocation, and as in the day of temptation in the wilderness: %%% Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba, Nga ku lunaku olw'e Masa mu ddungu: 19PSA095.009 When your fathers tempted me, proved me, and saw my work. %%% Bajjajja bammwe bwe bankema, Ne bangeza, ne balaba omulimu gwange. 19PSA095.010 Forty years long was I grieved with this generation, and said, It is a people that do err in their heart, and they have not known my ways: %%% Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebamanya makubo gange: 19PSA095.011 Unto whom I sware in my wrath that they should not enter into my rest. %%% Kyennava ndayira mu busungu bwange, Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange. 19PSA096.001 O sing unto the LORD a new song: sing unto the LORD, all the earth. %%% Muyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna. 19PSA096.002 Sing unto the LORD, bless his name; shew forth his salvation from day to day. %%% Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku. 19PSA096.003 Declare his glory among the heathen, his wonders among all people. %%% Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna. 19PSA096.004 For the LORD is great, and greatly to be praised: he is to be feared above all gods. %%% Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna. 19PSA096.005 For all the gods of the nations are idols: but the LORD made the heavens. %%% Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu. 19PSA096.006 Honour and majesty are before him: strength and beauty are in his sanctuary. %%% Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we. 19PSA096.007 Give unto the LORD, O ye kindreds of the people, give unto the LORD glory and strength. %%% Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi. 19PSA096.008 Give unto the LORD the glory due unto his name: bring an offering, and come into his courts. %%% Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze. 19PSA096.009 O worship the LORD in the beauty of holiness: fear before him, all the earth. %%% Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna. 19PSA096.010 Say among the heathen that the LORD reigneth: the world also shall be established that it shall not be moved: he shall judge the people righteously. %%% Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango egy'ensonga. 19PSA096.011 Let the heavens rejoice, and let the earth be glad; let the sea roar, and the fulness thereof. %%% Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; 19PSA096.012 Let the field be joyful, and all that is therein: then shall all the trees of the wood rejoice %%% Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu; 19PSA096.013 Before the LORD: for he cometh, for he cometh to judge the earth: he shall judge the world with righteousness, and the people with his truth. %%% Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'amazima ge. 19PSA097.001 The LORD reigneth; let the earth rejoice; let the multitude of isles be glad thereof. %%% Mukama afuga; ensi esanyuke: Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi. 19PSA097.002 Clouds and darkness are round about him: righteousness and judgment are the habitation of his throne. %%% Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe ye. 19PSA097.003 A fire goeth before him, and burneth up his enemies round about. %%% Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n’eruuyi. 19PSA097.004 His lightnings enlightened the world: the earth saw, and trembled. %%% Enjota ze zaamulisa ensi: Ensi n'eraba n'ekankana. 19PSA097.005 The hills melted like wax at the presence of the LORD, at the presence of the Lord of the whole earth. %%% Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna. 19PSA097.006 The heavens declare his righteousness, and all the people see his glory. %%% Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye. 19PSA097.007 Confounded be all they that serve graven images, that boast themselves of idols: worship him, all ye gods. %%% Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna. 19PSA097.008 Zion heard, and was glad; and the daughters of Judah rejoiced because of thy judgments, O LORD. %%% Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, ai Mukama. 19PSA097.009 For thou, LORD, art high above all the earth: thou art exalted far above all gods. %%% Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna. 19PSA097.010 Ye that love the LORD, hate evil: he preserveth the souls of his saints; he delivereth them out of the hand of the wicked. %%% Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi. 19PSA097.011 Light is sown for the righteous, and gladness for the upright in heart. %%% Omusana gwasigirwa omutuukirivu, N'essanyu oyo alina omutima ogw'amazima. 19PSA097.012 Rejoice in the LORD, ye righteous; and give thanks at the remembrance of his holiness. %%% Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu. 19PSA098.001 O sing unto the LORD a new song; for he hath done marvellous things: his right hand, and his holy arm, hath gotten him the victory. %%% Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi. 19PSA098.002 The LORD hath made known his salvation: his righteousness hath he openly shewed in the sight of the heathen. %%% Mukama amanyisizza obulokozi bwe: Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga. 19PSA098.003 He hath remembered his mercy and his truth toward the house of Israel: all the ends of the earth have seen the salvation of our God. %%% Ajjukidde okusaasira kwe n'obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isiraeri: Enkomerero zonna ez'ensi zirabye obulokozi bwa Katonda waffe. 19PSA098.004 Make a joyful noise unto the LORD, all the earth: make a loud noise, and rejoice, and sing praise. %%% Muyimbe n'eddoboozi ery'essanyu eri Mukama, mmwe ensi zonna: Muleete oluyimba muyimbe olw'essanyu, weewaawo, muyimbe eby'okutendereza. 19PSA098.005 Sing unto the LORD with the harp; with the harp, and the voice of a psalm. %%% Muyimbe okutendereza Mukama n'ennanga; N'ennanga era n'eddoboozi eriyimba. 19PSA098.006 With trumpets and sound of cornet make a joyful noise before the LORD, the King. %%% N'amakondeere n'eddoboozi ery'akagombe Muleete eddoboozi ery'essanyu mu maaso ga Kabaka, Mukama. 19PSA098.007 Let the sea roar, and the fulness thereof; the world, and they that dwell therein. %%% Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu; 19PSA098.008 Let the floods clap their hands: let the hills be joyful together %%% Amazzi gakube mu ngalo; Ensozi ziyimbire wamu olw'essanyu; 19PSA098.009 Before the LORD; for he cometh to judge the earth: with righteousness shall he judge the world, and the people with equity. %%% Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'obutuukirivu. 19PSA099.001 The LORD reigneth; let the people tremble: he sitteth between the cherubims; let the earth be moved. %%% Mukama afuga; amawanga gakankane; Atuula wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane. 19PSA099.002 The LORD is great in Zion; and he is high above all the people. %%% Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waggulu okusinga amawanga gonna. 19PSA099.003 Let them praise thy great and terrible name; for it is holy. %%% Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa. Ye mutukuvu. 19PSA099.004 The king's strength also loveth judgment; thou dost establish equity, thou executest judgment and righteousness in Jacob. %%% Era amaanyi ga kabaka gaagala omusango ogw'ensonga; Ggwe onyweza obutuukirivu, Otuukiriza omusango n'obutuukirivu mu Yakobo. 19PSA099.005 Exalt ye the LORD our God, and worship at his footstool; for he is holy. %%% Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Era musinzizenga ku ntebe y'ebigere bye: Ye mutukuvu. 19PSA099.006 Moses and Aaron among his priests, and Samuel among them that call upon his name; they called upon the LORD, and he answered them. %%% Musa ne Alooni mu bakabona be, Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye; Baakaabira Mukama, n'abayitaba. 19PSA099.007 He spake unto them in the cloudy pillar: they kept his testimonies, and the ordinance that he gave them. %%% Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire: Baakwata bye yategeeza; n'ekiragiro kye yabawa. 19PSA099.008 Thou answeredst them, O LORD our God: thou wast a God that forgavest them, though thou tookest vengeance of their inventions. %%% Wabaddamu, ai Mukama Katonda waffe: Wali Katonda abasonyiwa, Newakubadde nga wabawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe. 19PSA099.009 Exalt the LORD our God, and worship at his holy hill; for the LORD our God is holy. %%% Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Musinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu; Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu. 19PSA100.001 Make a joyful noise unto the LORD, all ye lands. %%% Muleetere Mukama eddoboozi ery'essaayu, mmwe ensi zonna. 19PSA100.002 Serve the LORD with gladness: come before his presence with singing. %%% Mumuweereze Mukama n'essanyu: Mujje mu maaso ge n'okuyimba. 19PSA100.003 Know ye that the LORD he is God: it is he that hath made us, and not we ourselves; we are his people, and the sheep of his pasture. %%% Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe; Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye. 19PSA100.004 Enter into his gates with thanksgiving, and into his courts with praise: be thankful unto him, and bless his name. %%% Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye. 19PSA100.005 For the LORD is good; his mercy is everlasting; and his truth endureth to all generations. %%% Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera; N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. 19PSA101.001 I will sing of mercy and judgment: unto thee, O LORD, will I sing. %%% Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango: Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza. 19PSA101.002 I will behave myself wisely in a perfect way. O when wilt thou come unto me? I will walk within my house with a perfect heart. %%% Naatambuliranga n'amagezi mu kkubo ettuukirivu: Woowe, olijja gye ndi ddi? Naatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde. 19PSA101.003 I will set no wicked thing before mine eyes: I hate the work of them that turn aside; it shall not cleave to me. %%% Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange: 19PSA101.004 A froward heart shall depart from me: I will not know a wicked person. %%% Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi. 19PSA101.005 Whoso privily slandereth his neighbour, him will I cut off: him that hath an high look and a proud heart will not I suffer. %%% Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'azikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga. 19PSA101.006 Mine eyes shall be upon the faithful of the land, that they may dwell with me: he that walketh in a perfect way, he shall serve me. %%% Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange: Atambulira mu kkubo ettuukirivu ye anampeerezanga. 19PSA101.007 He that worketh deceit shall not dwell within my house: he that telleth lies shall not tarry in my sight. %%% Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange: Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange. 19PSA101.008 I will early destroy all the wicked of the land; that I may cut off all wicked doers from the city of the LORD. %%% Buli nkya naazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi; Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama. 19PSA102.001 Hear my prayer, O LORD, and let my cry come unto thee. %%% Wulira okusaba kwange, ai Mukama, Okukaaba kwange kutuuke gy'oli. 19PSA102.002 Hide not thy face from me in the day when I am in trouble; incline thine ear unto me: in the day when I call answer me speedily. %%% Tonkisa maaso go ku lunaku olw'okunakuwala kwange: Otege okutu kwo we ndi; Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu. 19PSA102.003 For my days are consumed like smoke, and my bones are burned as an hearth. %%% Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng'omukka, N'amagumba gange gookebwa ng'omumuli. 19PSA102.004 My heart is smitten, and withered like grass; so that I forget to eat my bread. %%% Omutima gwange gwokeddwa, guwotose ng'omuddo; Kubanga neerabira okulya emmere yange. 19PSA102.005 By reason of the voice of my groaning my bones cleave to my skin. %%% Olw'eddoboozi eryokusinda kwange Amagumba gange geegasse n'omubiri gwange. 19PSA102.006 I am like a pelican of the wilderness: I am like an owl of the desert. %%% Nninga kimbala ow'omu dduungu Nfuuse ng'ekiwuugulu eky'omu nsiko. 19PSA102.007 I watch, and am as a sparrow alone upon the house top. %%% Ntunula, era nfuuse Ng'enkazaluggya etuula ku kitikkiro yokka. 19PSA102.008 Mine enemies reproach me all the day; and they that are mad against me are sworn against me. %%% Abalabe bange bazibya obudde okunvuma; Abandalukidde bandayira. 19PSA102.009 For I have eaten ashes like bread, and mingled my drink with weeping, %%% Kubanga ndidde evvu ng'omugaati, Era ntabudde kye nnywedde n'amaziga. 19PSA102.010 Because of thine indignation and thy wrath: for thou hast lifted me up, and cast me down. %%% Olw'okunyiiga kwo n'obusungu bwo: Kubanga wannonda n'onsuula. 19PSA102.011 My days are like a shadow that declineth; and I am withered like grass. %%% Ennaku zange ziri ng'ekisiikirize ekiggwaawo; Era mpotose ng'omuddo. 19PSA102.012 But thou, O LORD, shalt endure for ever; and thy remembrance unto all generations. %%% Naye ggwe, ai Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna. 19PSA102.013 Thou shalt arise, and have mercy upon Zion: for the time to favour her, yea, the set time, is come. %%% Oligolokoka, olisaasira Sayuuni: Kubanga obudde butuuse okumusaasira, Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse. 19PSA102.014 For thy servants take pleasure in her stones, and favour the dust thereof. %%% Kubanga abaddu bo basanyukira amayinja ge, Era basaasira enfuufu ye. 19PSA102.015 So the heathen shall fear the name of the LORD, and all the kings of the earth thy glory. %%% Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama, Ne bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kyo: 19PSA102.016 When the LORD shall build up Zion, he shall appear in his glory. %%% Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni, Alabikidde mu kitiibwa kye; 19PSA102.017 He will regard the prayer of the destitute, and not despise their prayer. %%% Alowoozezza okusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe. 19PSA102.018 This shall be written for the generation to come: and the people which shall be created shall praise the LORD. %%% Ekyo kiriwandiikirwa emirembe egirijja: N'eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama. 19PSA102.019 For he hath looked down from the height of his sanctuary; from heaven did the LORD behold the earth; %%% Kubanga atunuulidde wansi ng'ayima ku watukuvu we awagulumivu; Mukama yalaba ensi ng'ayima mu ggulu; 19PSA102.020 To hear the groaning of the prisoner; to loose those that are appointed to death; %%% Okuwulira okusinda kw'omusibe; Okusumulula abo abateekerwawo okufa; 19PSA102.021 To declare the name of the LORD in Zion, and his praise in Jerusalem; %%% Abantu balyoke batenderenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni N'ettendo lye mu Yerusaalemi; 19PSA102.022 When the people are gathered together, and the kingdoms, to serve the LORD. %%% Amawanga bwe galikuŋŋaana awamu, N'amatwale, okuweereza Mukama. 19PSA102.023 He weakened my strength in the way; he shortened my days. %%% Yakendeeza ku maanyi gange mu kkubo; Yasala ku nnaku zange. 19PSA102.024 I said, O my God, take me not away in the midst of my days: thy years are throughout all generations. %%% Ne njogera nti Ai Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna. 19PSA102.025 Of old hast thou laid the foundation of the earth: and the heavens are the work of thy hands. %%% Edda n'edda watandika ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo. 19PSA102.026 They shall perish, but thou shalt endure: yea, all of them shall wax old like a garment; as a vesture shalt thou change them, and they shall be changed: %%% Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga: Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; Olibiwaanyisa ng'ekyambalo, n'ebyo biriwaanyisibwa: 19PSA102.027 But thou art the same, and thy years shall have no end. %%% Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma. 19PSA102.028 The children of thy servants shall continue, and their seed shall be established before thee. %%% Abaana b'abaddu bo banaabeerangawo. N'ezzadde lyabwe linaanywezebwanga mu maaso go. 19PSA103.001 Bless the LORD, O my soul: and all that is within me, bless his holy name. %%% Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu. 19PSA103.002 Bless the LORD, O my soul, and forget not all his benefits: %%% Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna: 19PSA103.003 Who forgiveth all thine iniquities; who healeth all thy diseases; %%% Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna; 19PSA103.004 Who redeemeth thy life from destruction; who crowneth thee with lovingkindness and tender mercies; %%% Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi: 19PSA103.005 Who satisfieth thy mouth with good things; so that thy youth is renewed like the eagle's. %%% Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda obuggya ng'empungu. 19PSA103.006 The LORD executeth righteousness and judgment for all that are oppressed. %%% Mukama akola eby'obutuukirivu, Atuukiriza emisango ku lw'abo bonna abajoogebwa. 19PSA103.007 He made known his ways unto Moses, his acts unto the children of Israel. %%% Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri. 19PSA103.008 The LORD is merciful and gracious, slow to anger, and plenteous in mercy. %%% Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi. 19PSA103.009 He will not always chide: neither will he keep his anger for ever. %%% Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna. 19PSA103.010 He hath not dealt with us after our sins; nor rewarded us according to our iniquities. %%% Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. 19PSA103.011 For as the heaven is high above the earth, so great is his mercy toward them that fear him. %%% Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya. 19PSA103.012 As far as the east is from the west, so far hath he removed our transgressions from us. %%% Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe: 19PSA103.013 Like as a father pitieth his children, so the LORD pitieth them that fear him. %%% Nga kitaabwe bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya. 19PSA103.014 For he knoweth our frame; he remembereth that we are dust. %%% Kubanga amanyi omubiri gwaffe; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu. 19PSA103.015 As for man, his days are as grass: as a flower of the field, so he flourisheth. %%% Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo; Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo. 19PSA103.016 For the wind passeth over it, and it is gone; and the place thereof shall know it no more. %%% Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate. 19PSA103.017 But the mercy of the LORD is from everlasting to everlasting upon them that fear him, and his righteousness unto children's children; %%% Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya, N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana; 19PSA103.018 To such as keep his covenant, and to those that remember his commandments to do them. %%% Eri abo abakwata endagaano ye, N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola. 19PSA103.019 The LORD hath prepared his throne in the heavens; and his kingdom ruleth over all. %%% Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna. 19PSA103.020 Bless the LORD, ye his angels, that excel in strength, that do his commandments, hearkening unto the voice of his word. %%% Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye. 19PSA103.021 Bless ye the LORD, all ye his hosts; ye ministers of his, that do his pleasure. %%% Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; Abaweereza be, abakola by'ayagala. 19PSA103.022 Bless the LORD, all his works in all places of his dominion: bless the LORD, O my soul. %%% Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, Mu bifo byonna by'afugiramu: Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. 19PSA104.001 Bless the LORD, O my soul. O LORD my God, thou art very great; thou art clothed with honour and majesty. %%% Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ai Mukama Katoada wange, oli mukulu nnyo; Oyambadde ekitiibwa n'obukulu. 19PSA104.002 Who coverest thyself with light as with a garment: who stretchest out the heavens like a curtain: %%% Eyeebikka omusana ng'ekyambalo; Atimba eggulu ng'eggigi: 19PSA104.003 Who layeth the beams of his chambers in the waters: who maketh the clouds his chariot: who walketh upon the wings of the wind: %%% Asimba empagi ez'enju ze mu mazzi; Afuula ebire eggaali lye; Atambulira ku biwaawaatiro by'empewo: 19PSA104.004 Who maketh his angels spirits; his ministers a flaming fire: %%% Afuula ababaka be empewo; N'abaweereza be omuliro ogwaka: 19PSA104.005 Who laid the foundations of the earth, that it should not be removed for ever. %%% Eyasimba emisingi gy'ensi, Ereme okusagaasagananga emirembe gyonna. 19PSA104.006 Thou coveredst it with the deep as with a garment: the waters stood above the mountains. %%% Wagibikkako ennyanja ng'ekyambalo; Amazzi ne gayimirira waggulu w'ensozi. 19PSA104.007 At thy rebuke they fled; at the voice of thy thunder they hasted away. %%% Ggwe bwe wanenya ne gadduka; Eddoboozi ery'okubwatuka kwo bwe lyawulirwa ne ganguwa okugenda; 19PSA104.008 They go up by the mountains; they go down by the valleys unto the place which thou hast founded for them. %%% Gaalinnya ku nsozi, gaaserengetera mu biwonvu, Ne gatuuka mu kifo kye wagateekerawo. 19PSA104.009 Thou hast set a bound that they may not pass over; that they turn not again to cover the earth. %%% Wagalagira ensalo gye gatayinza kusukkako; Galeme okudda nate okubikka ku nsi. 19PSA104.010 He sendeth the springs into the valleys, which run among the hills. %%% Aleeta enzizi mu biwonvu; Zikulukuta mu nsozi: 19PSA104.011 They give drink to every beast of the field: the wild asses quench their thirst. %%% Zinywesa ensolo zonna ez'omu nsiko; Entulege ziwona ennyonta. 19PSA104.012 By them shall the fowls of the heaven have their habitation, which sing among the branches. %%% Ennyonyi ez'omu ggulu kwe zituula ku ezo, Ziyimbira mu matabi. 19PSA104.013 He watereth the hills from his chambers: the earth is satisfied with the fruit of thy works. %%% Afukirira amazzi ensozi ng'ayima mu nju ze: Ensi n'ekkuta ebibala eby'emirimu gyo. 19PSA104.014 He causeth the grass to grow for the cattle, and herb for the service of man: that he may bring forth food out of the earth; %%% Amereza ente essubi, N'omuddo okuweereza abantu; Balyoke baggyenga emmere mu ttaka; 19PSA104.015 And wine that maketh glad the heart of man, and oil to make his face to shine, and bread which strengtheneth man's heart. %%% N'omwenge ogusanyusa omutima gw'abantu, N'amafuta ganyirizenga amaaso ge, N'emmere ewa omuntu amaanyi omutima gwe. 19PSA104.016 The trees of the LORD are full of sap; the cedars of Lebanon, which he hath planted; %%% Emiti gya Mukama gikkuta; Emivule gya Lebanooni gye yasimba; 19PSA104.017 Where the birds make their nests: as for the stork, the fir trees are her house. %%% Ennyonyi gye zikoleramu ebisu byazo: Kasida, emiberoosi ye nnyumba ye. 19PSA104.018 The high hills are a refuge for the wild goats; and the rocks for the conies. %%% Ensozi empanvu ziba za mbulabuzi; Amayinja kye kiddukiro ky'obumyu. 19PSA104.019 He appointed the moon for seasons: the sun knoweth his going down. %%% Yateekerawo omwezi ebiro: Enjuba emanyi okugwa kwayo. 19PSA104.020 Thou makest darkness, and it is night: wherein all the beasts of the forest do creep forth. %%% Ggwe oleeta ekizikiza, ekiro ne kibaawo; Ensolo zonna ez'omu kibira mwe zifulumira nga zisooba. 19PSA104.021 The young lions roar after their prey, and seek their meat from God. %%% Empologoma ento zivuumira gye zinaalya, Era zinoonya emmere yaazo eri Katonda. 19PSA104.022 The sun ariseth, they gather themselves together, and lay them down in their dens. %%% Enjuba n'evaayo, ne zigenda, Ne zeebaka mu mpuku zaazo. 19PSA104.023 Man goeth forth unto his work and to his labour until the evening. %%% Abantu ne bagenda ku mulimu gwabwe N'okutegana kwabwe okutuusa akawungeezi. 19PSA104.024 O LORD, how manifold are thy works! in wisdom hast thou made them all: the earth is full of thy riches. %%% Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi Wagikola gyonna mu magezi: Ensi ejjudde obugagga bwo. 19PSA104.025 So is this great and wide sea, wherein are things creeping innumerable, both small and great beasts. %%% Ennyanja eri, ennene engazi, Omuli ebyewalula ebitabalikika, Ebisolo ebitono era n'ebinene. 19PSA104.026 There go the ships: there is that leviathan, whom thou hast made to play therein. %%% Eri amaato gye gayitako; Lukwata mwali, gwe wakola okuzannyira omwo. 19PSA104.027 These wait all upon thee; that thou mayest give them their meat in due season. %%% Ebyo byonna bikulindirira ggwe, Obiwe emmere yaabyo mu ntuuko zaayo. 19PSA104.028 That thou givest them they gather: thou openest thine hand, they are filled with good. %%% Gy'obiwa gye bikuŋŋaanya; Oyanjuluza engalo, ne bikkuta ebirungi. 19PSA104.029 Thou hidest thy face, they are troubled: thou takest away their breath, they die, and return to their dust. %%% Okisa amaaso go, ne byeraliikirira; Obiggyamu omukka gwabyo, ne bifa, Ne bidda mu nfuufu yaabyo. 19PSA104.030 Thou sendest forth thy spirit, they are created: and thou renewest the face of the earth. %%% Otuma omwoyo gwo, ne bitondebwa; Era ofuula obuggya amaaso g'ettaka. 19PSA104.031 The glory of the LORD shall endure for ever: the LORD shall rejoice in his works. %%% Ekitiibwa kya Mukama kibeere kya kubeerera; Mukama asanyukire emirimu gye: 19PSA104.032 He looketh on the earth, and it trembleth: he toucheth the hills, and they smoke. %%% Atunuulira ensi, n'ekankana; Akwata ku nsozi, ne zinyooka. 19PSA104.033 I will sing unto the LORD as long as I live: I will sing praise to my God while I have my being. %%% Naayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo. 19PSA104.034 My meditation of him shall be sweet: I will be glad in the LORD. %%% Okulowooza kwange kumuwoomerenga: Naasanyukiranga Mukama. 19PSA104.035 Let the sinners be consumed out of the earth, and let the wicked be no more. Bless thou the LORD, O my soul. Praise ye the LORD. %%% Ababi bazikirire baggweewo ku nsi, Aboonoonye baleme okubeerawo nate. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Mumutendereze Mukama. 19PSA105.001 O give thanks unto the LORD; call upon his name: make known his deeds among the people. %%% Mumwebazenga Mukama, mukaabirenga erinnya lye; Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga. 19PSA105.002 Sing unto him, sing psalms unto him: talk ye of all his wondrous works. %%% Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza; Mwogerenga ku by'amagero bye byonna. 19PSA105.003 Glory ye in his holy name: let the heart of them rejoice that seek the LORD. %%% Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu: Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga. 19PSA105.004 Seek the LORD, and his strength: seek his face evermore. %%% Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge; Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna. 19PSA105.005 Remember his marvellous works that he hath done; his wonders, and the judgments of his mouth; %%% Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango egy'akamwa ke; 19PSA105.006 O ye seed of Abraham his servant, ye children of Jacob his chosen. %%% Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. 19PSA105.007 He is the LORD our God: his judgments are in all the earth. %%% Oyo ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna. 19PSA105.008 He hath remembered his covenant for ever, the word which he commanded to a thousand generations. %%% Ajjukira endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi; 19PSA105.009 Which covenant he made with Abraham, and his oath unto Isaac; %%% Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka; 19PSA105.010 And confirmed the same unto Jacob for a law, and to Israel for an everlasting covenant: %%% N'ekyo naakinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo: 19PSA105.011 Saying, Unto thee will I give the land of Canaan, the lot of your inheritance: %%% Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwammwe: 19PSA105.012 When they were but a few men in number; yea, very few, and strangers in it. %%% Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe: Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo; 19PSA105.013 When they went from one nation to another, from one kingdom to another people; %%% Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu, Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala. 19PSA105.014 He suffered no man to do them wrong: yea, he reproved kings for their sakes; %%% Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe; 19PSA105.015 Saying, Touch not mine anointed, and do my prophets no harm. %%% Ng'ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange. 19PSA105.016 Moreover he called for a famine upon the land: he brake the whole staff of bread. %%% N'ayita enjala okugwa ku nsi; N'amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe. 19PSA105.017 He sent a man before them, even Joseph, who was sold for a servant: %%% Yabakulembeza omuntu; Yusufu yatundibwa okuba omuddu: 19PSA105.018 Whose feet they hurt with fetters: he was laid in iron: %%% Ebigere bye baabirumya enjegere; Yagalamira ng'asibiddwa n'ebyuma: 19PSA105.019 Until the time that his word came: the word of the LORD tried him. %%% Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira; Ekigambo kya Mukama kyamukemanga. 19PSA105.020 The king sent and loosed him; even the ruler of the people, and let him go free. %%% Kabaka yatuma n'amusumulula; Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala. 19PSA105.021 He made him lord of his house, and ruler of all his substance: %%% N'amufuula omukulu w'ennyumba ye, N'amuteresa ebintu bye byonna: 19PSA105.022 To bind his princes at his pleasure; and teach his senators wisdom. %%% Okusiba abalangira be bw'ayagala, N'okuyigiriza amagezi abakadde be. 19PSA105.023 Israel also came into Egypt; and Jacob sojourned in the land of Ham. %%% Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri; Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu. 19PSA105.024 And he increased his people greatly; and made them stronger than their enemies. %%% N'ayongera nnyo abantu be, N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe. 19PSA105.025 He turned their heart to hate his people, to deal subtilly with his servants. %%% N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be, Okukuusakuusa abaddu be. 19PSA105.026 He sent Moses his servant; and Aaron whom he had chosen. %%% N'atuma Musa omuddu we, Ne Alooni gwe yalonda. 19PSA105.027 They shewed his signs among them, and wonders in the land of Ham. %%% Ne bassa mu bo obubonero bwe, N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu. 19PSA105.028 He sent darkness, and made it dark; and they rebelled not against his word. %%% N'aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata; Ne bajeemera ebigambo bye. 19PSA105.029 He turned their waters into blood, and slew their fish. %%% N'afuula amazzi gaabwe omusaayi, N'atta ebyennyanja byabwe. 19PSA105.030 Their land brought forth frogs in abundance, in the chambers of their kings. %%% Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, Mu nju za bakabaka baabwe. 19PSA105.031 He spake, and there came divers sorts of flies, and lice in all their coasts. %%% N'ayogera, ebitole eby'ensowera ne bijja, N'ensekere mu nsalo zaabwe zonna. 19PSA105.032 He gave them hail for rain, and flaming fire in their land. %%% N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba, N'omuliro ogwaka mu nsi yaabwe. 19PSA105.033 He smote their vines also and their fig trees; and brake the trees of their coasts. %%% Era n'akuba n'emizabbibu n'emitiini gyabwe; N'amenya emiti egy’omu nsalo zaabwe. 19PSA105.034 He spake, and the locusts came, and caterpillers, and that without number, %%% N'ayogera, enzige ne zijja, N'obuwuka, era ebyo tebyabalikika omuwendo gwabyo. 19PSA105.035 And did eat up all the herbs in their land, and devoured the fruit of their ground. %%% Ne birya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe, Ne birya ebibala eby'ettaka lyabwe. 19PSA105.036 He smote also all the firstborn in their land, the chief of all their strength. %%% Era n’akuba n'ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe, Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna. 19PSA105.037 He brought them forth also with silver and gold: and there was not one feeble person among their tribes. %%% N'abaggyamu nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu omu mu bika bye. 19PSA105.038 Egypt was glad when they departed: for the fear of them fell upon them. %%% Misiri n’esanyuka bwe baagenda; Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko. 19PSA105.039 He spread a cloud for a covering; and fire to give light in the night. %%% N'ayanjuluza ekire okubabikkangako; N'omuliro gubaakirenga ekiro. 19PSA105.040 The people asked, and he brought quails, and satisfied them with the bread of heaven. %%% Ne basaba, n'aleeta obugubi, N'abakkusa emmere ey'omu ggulu. 19PSA105.041 He opened the rock, and the waters gushed out; they ran in the dry places like a river. %%% N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika; Ne gakulukuta mu bifo ebikalu. 19PSA105.042 For he remembered his holy promise, and Abraham his servant. %%% Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu, Ne Ibulayimu omuddu we. 19PSA105.043 And he brought forth his people with joy, and his chosen with gladness: %%% N'aggyamu abantu be n'essanyu, N'abatonde be n'okuyimba. 19PSA105.044 And gave them the lands of the heathen: and they inherited the labour of the people; %%% N'abawa ensi ez'amawanga; Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga: 19PSA105.045 That they might observe his statutes, and keep his laws. Praise ye the LORD. %%% Balyoke bakwatenga ebiragiro bye, Beekuumenga amateeka ge. Mumutendereze Mukama. 19PSA106.001 Praise ye the LORD. O give thanks unto the LORD; for he is good: for his mercy endureth for ever. %%% Mumutendereze Mukama. Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA106.002 Who can utter the mighty acts of the LORD? who can shew forth all his praise? %%% Ani ayinza okwatula ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama, Oba okwolesa ettendo lye lyonna? 19PSA106.003 Blessed are they that keep judgment, and he that doeth righteousness at all times. %%% Balina omukisa abakwata omusango, N'oyo akola eby'obutuukirivu mu biro byonna. 19PSA106.004 Remember me, O LORD, with the favour that thou bearest unto thy people: O visit me with thy salvation; %%% Onjijukire, ai Mukama, n’ekisa ky'olina eri abantu bo; Nkwegayiridde, onjijire n'obulokozi bwo: 19PSA106.005 That I may see the good of thy chosen, that I may rejoice in the gladness of thy nation, that I may glory with thine inheritance. %%% Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa, Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo. Neenyumirize wamu n'obusika bwo. 19PSA106.006 We have sinned with our fathers, we have committed iniquity, we have done wickedly. %%% Twayonoona ffe ne bajjajjaffe, Twakola ebitali bya butuukirivu, twakola obubi. 19PSA106.007 Our fathers understood not thy wonders in Egypt; they remembered not the multitude of thy mercies; but provoked him at the sea, even at the Red sea. %%% Bajjajjaffe tebaategeera bya magero byo mu Misiri; Ne batajjukira kusaasira kwo okungi; Naye ne bajeemera ku nnyanja, ku Nnyanja Emmyufu. 19PSA106.008 Nevertheless he saved them for his name's sake, that he might make his mighty power to be known. %%% Era naye n’abalokola olw'erinaya lye, Amanyise obuyinza bwe obungi. 19PSA106.009 He rebuked the Red sea also, and it was dried up: so he led them through the depths, as through the wilderness. %%% Era n'anenya Ennyanja Emmyufu, n'ekalira: Awo n'abayisa mu buziba, nga mu ddungu. 19PSA106.010 And he saved them from the hand of him that hated them, and redeemed them from the hand of the enemy. %%% N'abalokola eri omukono gw'oyo eyabakyawa, N'abanunula mu mukono gw'omulabe. 19PSA106.011 And the waters covered their enemies: there was not one of them left. %%% Amazzi ne gabikka ku balabe baabwe: Ne watasigalawo n'omu. 19PSA106.012 Then believed they his words; they sang his praise. %%% Ne balyoka bakkiriza ebigambo bye; Ne bayimba okumutendereza. 19PSA106.013 They soon forgat his works; they waited not for his counsel: %%% Beerabira mangu emirimu gye; Tebaalindirira kuteesa kwe: 19PSA106.014 But lusted exceedingly in the wilderness, and tempted God in the desert. %%% Naye ne beegombera nnyo mu lukoola, Ne bakemera Katonda mu ddungu. 19PSA106.015 And he gave them their request; but sent leanness into their soul. %%% N'abawa bye baasaba; Naye n'aleeta obukovvu mu mmeeme yaabwe. 19PSA106.016 They envied Moses also in the camp, and Aaron the saint of the LORD. %%% Era obuggya ne bubakwatira Musa mu lusiisira, Ne Alooni omutukuvu wa Mukama. 19PSA106.017 The earth opened and swallowed up Dathan, and covered the company of Abiram. %%% Ensi n'eyasama n'emira Dasani. N'ebikka ku kibiina kya Abiraamu. 19PSA106.018 And a fire was kindled in their company; the flame burned up the wicked. %%% Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe; Ennimi zaagwo ne zookya ababi. 19PSA106.019 They made a calf in Horeb, and worshipped the molten image. %%% Ne bakolera ennyana mu Kolebu, Ne basinza ekifaananyi ekisaanuuse. 19PSA106.020 Thus they changed their glory into the similitude of an ox that eateth grass. %%% Bwe batyo ne bawaanyisa ekitiibwa kyabwe Okuba ekifaananyi ky'ente erya omuddo. 19PSA106.021 They forgat God their saviour, which had done great things in Egypt; %%% Ne beerabira Katonda omulokozi waabwe, Eyakolera ebikulu mu Misiri; 19PSA106.022 Wondrous works in the land of Ham, and terrible things by the Red sea. %%% Eby'amagero mu nsi ya Kaamu, N'eby'entiisa ku Nnyanja Emmyufu. 19PSA106.023 Therefore he said that he would destroy them, had not Moses his chosen stood before him in the breach, to turn away his wrath, lest he should destroy them. %%% Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza, Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge mu kituli, Okuzzaayo obusungu bwe, aleme okubazikiriza. 19PSA106.024 Yea, they despised the pleasant land, they believed not his word: %%% Weewaawo, baanyooma ensi ey'okwesiima, Tebakkiriza kigambo kye; 19PSA106.025 But murmured in their tents, and hearkened not unto the voice of the LORD. %%% Naye ne beemulugunya mu weema zaabwe, Ne batawulira ddoboozi lya Mukama. 19PSA106.026 Therefore he lifted up his hand against them, to overthrow them in the wilderness: %%% Kyeyava ayimusa omukono gwe gye bali, Ng'alibasuulira mu ddungu: 19PSA106.027 To overthrow their seed also among the nations, and to scatter them in the lands. %%% Era ng'aligwisa ezzadde lyabwe mu mawanga, Era ng'alibasaasaanya mu nsi. 19PSA106.028 They joined themselves also unto Baalpeor, and ate the sacrifices of the dead. %%% Era ne beegatta ne Baalipyoli, Ne balya ssaddaaka ez'abafu. 19PSA106.029 Thus they provoked him to anger with their inventions: and the plague brake in upon them. %%% Bwe batyo bwe baamusunguwazanga n'ebikolwa byabwe; Kawumpuli n'agwa mu bo. 19PSA106.030 Then stood up Phinehas, and executed judgment: and so the plague was stayed. %%% Finekaasi n'alyoka ayimirira n'atuukiriza omusango: Kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo. 19PSA106.031 And that was counted unto him for righteousness unto all generations for evermore. %%% Ekyo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Okutuusa emirembe gyonna egitaliggwaawo. 19PSA106.032 They angered him also at the waters of strife, so that it went ill with Moses for their sakes: %%% Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba, N'okulaba Musa n'alaba obubi ku lwabwe: 19PSA106.033 Because they provoked his spirit, so that he spake unadvisedly with his lips. %%% Kubanga baali baagala okujeemera omwoyo gwe, N'ayogera ebitali bya magezi n'emimwa gye. 19PSA106.034 They did not destroy the nations, concerning whom the LORD commanded them: %%% Tebaazikiriza mawanga, Nga Mukama bye yabalagira; 19PSA106.035 But were mingled among the heathen, and learned their works. %%% Naye ne beegatta n'amawanga, Ne bayiga emirimu gyabwe: 19PSA106.036 And they served their idols: which were a snare unto them. %%% Ne baweereza ebifaananyi byabwe; Ebyabafuukira ekyambika. 19PSA106.037 Yea, they sacrificed their sons and their daughters unto devils, %%% Weewaawo, baawangayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bassetaani. 19PSA106.038 And shed innocent blood, even the blood of their sons and of their daughters, whom they sacrificed unto the idols of Canaan: and the land was polluted with blood. %%% Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi, gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe, Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani; Ensi n'eyonooneka n'omusaayi. 19PSA106.039 Thus were they defiled with their own works, and went a whoring with their own inventions. %%% Bwe batyo ne babaako empitambi olw'emirimu gyabwe, Ne bagenda bayenda mu bikolwa byabwe. 19PSA106.040 Therefore was the wrath of the LORD kindled against his people, insomuch that he abhorred his own inheritance. %%% Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka eri abantu be, N'atamwa obusika bwe. 19PSA106.041 And he gave them into the hand of the heathen; and they that hated them ruled over them. %%% N'abawaayo mu mukono gw'amawanga; N'abo abaabakyawa ne babafuga. 19PSA106.042 Their enemies also oppressed them, and they were brought into subjection under their hand. %%% Era abalabe baabwe ne babajooga, Ne bajeemulwa wansi w'omukono gwabwe. 19PSA106.043 Many times did he deliver them; but they provoked him with their counsel, and were brought low for their iniquity. %%% Emirundi emingi yabawonya; Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe, Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe. 19PSA106.044 Nevertheless he regarded their affliction, when he heard their cry: %%% Era naye n'atunuulira ennaku zaabwe, Bwe yawulira okukaaba kwabwe: 19PSA106.045 And he remembered for them his covenant, and repented according to the multitude of his mercies. %%% N'abajjuukirira endagaano ye, Ne yejjusa ng'okusaasira kwe bwe kuli okungi. 19PSA106.046 He made them also to be pitied of all those that carried them captives. %%% Era n'ababasaasiza Bonna abaabatwalanga mu busibe. 19PSA106.047 Save us, O LORD our God, and gather us from among the heathen, to give thanks unto thy holy name, and to triumph in thy praise. %%% Otulokole, ai Mukama Katonda waffe, Otukuŋŋaanye tuve mu mawanga, Okwebazanga erinnya lyo ettukuvu, N'okujagulizanga ettendo lyo. 19PSA106.048 Blessed be the LORD God of Israel from everlasting to everlasting: and let all the people say, Amen. Praise ye the LORD. %%% Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. 19PSA107.001 O give thanks unto the LORD, for he is good: for his mercy endureth for ever. %%% Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA107.002 Let the redeemed of the LORD say so, whom he hath redeemed from the hand of the enemy; %%% Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo, Be yanunula mu mukono gw'omulabe; 19PSA107.003 And gathered them out of the lands, from the east, and from the west, from the north, and from the south. %%% N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi, Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, Mu bukiika obwa kkono ne mu bwa ddyo: 19PSA107.004 They wandered in the wilderness in a solitary way; they found no city to dwell in. %%% Baakyamira mu ddungu mu kkubo omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu. 19PSA107.005 Hungry and thirsty, their soul fainted in them. %%% Baalumibwa enjala n'ennyonta, Emmeeme yaabwe n'ezirika mu bo. 19PSA107.006 Then they cried unto the LORD in their trouble, and he delivered them out of their distresses. %%% Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikira kwabwe. 19PSA107.007 And he led them forth by the right way, that they might go to a city of habitation. %%% Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu. 19PSA107.008 Oh that men would praise the LORD for his goodness, and for his wonderful works to the children of men! %%% Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! 19PSA107.009 For he satisfieth the longing soul, and filleth the hungry soul with goodness. %%% Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi. 19PSA107.010 Such as sit in darkness and in the shadow of death, being bound in affliction and iron; %%% Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa, Nga basibibwa n’ennaku n'ekyuma; 19PSA107.011 Because they rebelled against the words of God, and contemned the counsel of the most High: %%% Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda, Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu ennyo: 19PSA107.012 Therefore he brought down their heart with labour; they fell down, and there was none to help. %%% Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba. 19PSA107.013 Then they cried unto the LORD in their trouble, and he saved them out of their distresses. %%% Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe. 19PSA107.014 He brought them out of darkness and the shadow of death, and brake their bands in sunder. %%% N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa, N'amenyaamenya enjegere zaabwe. 19PSA107.015 Oh that men would praise the LORD for his goodness, and for his wonderful works to the children of men! %%% Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu. 19PSA107.016 For he hath broken the gates of brass, and cut the bars of iron in sunder. %%% Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo, N'atemera ddala ebisiba eby'ebyuma: 19PSA107.017 Fools because of their transgression, and because of their iniquities, are afflicted. %%% Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe, N'olw'obutali butuukirivu bwabwe, babonyaabonyezebwa. 19PSA107.018 Their soul abhorreth all manner of meat; and they draw near unto the gates of death. %%% Emmeeme yaabwe etamwa emmere yonna yonna; Ne basemberera emiryango egy'okufa. 19PSA107.019 Then they cry unto the LORD in their trouble, and he saveth them out of their distresses. %%% Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe. 19PSA107.020 He sent his word, and healed them, and delivered them from their destructions. %%% Atuma ekigambo kye, n’abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe. 19PSA107.021 Oh that men would praise the LORD for his goodness, and for his wonderful works to the children of men! %%% Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! 19PSA107.022 And let them sacrifice the sacrifices of thanksgiving, and declare his works with rejoicing. %%% Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba. 19PSA107.023 They that go down to the sea in ships, that do business in great waters; %%% Abaserengetera ku nnyanja mu maato, Abakola emirimu awali amazzi amangi; 19PSA107.024 These see the works of the LORD, and his wonders in the deep. %%% Abo balaba ebikolwa bya Mukama, N'eby'amagero bye mu buziba. 19PSA107.025 For he commandeth, and raiseth the stormy wind, which lifteth up the waves thereof. %%% Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga, Oguyimusa amayengo gaagwo. 19PSA107.026 They mount up to the heaven, they go down again to the depths: their soul is melted because of trouble. %%% Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi: Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku. 19PSA107.027 They reel to and fro, and stagger like a drunken man, and are at their wit's end. %%% Beesunda eruuyi n'eruuyi, era batagatta ng'omutamiivu, N'amagezi gonna nga gababuze. 19PSA107.028 Then they cry unto the LORD in their trouble, and he bringeth them out of their distresses. %%% Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe. 19PSA107.029 He maketh the storm a calm, so that the waves thereof are still. %%% Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka. 19PSA107.030 Then are they glad because they be quiet; so he bringeth them unto their desired haven. %%% Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu. 19PSA107.031 Oh that men would praise the LORD for his goodness, and for his wonderful works to the children of men! %%% Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu 19PSA107.032 Let them exalt him also in the congregation of the people, and praise him in the assembly of the elders. %%% Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu, Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde. 19PSA107.033 He turneth rivers into a wilderness, and the watersprings into dry ground; %%% Afuula emigga eddungu, N'enzizi azifuula ettaka ekkalu; 19PSA107.034 A fruitful land into barrenness, for the wickedness of them that dwell therein. %%% Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo, Olw'obubi bwabo abatuula omwo. 19PSA107.035 He turneth the wilderness into a standing water, and dry ground into watersprings. %%% Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi, N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi. 19PSA107.036 And there he maketh the hungry to dwell, that they may prepare a city for habitation; %%% Omwo mw'atuuza abalumwa enjala, Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu; 19PSA107.037 And sow the fields, and plant vineyards, which may yield fruits of increase. %%% Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu, Beefunirenga ebibala eby'ekyengera. 19PSA107.038 He blesseth them also, so that they are multiplied greatly; and suffereth not their cattle to decrease. %%% Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera. 19PSA107.039 Again, they are minished and brought low through oppression, affliction, and sorrow. %%% Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala. 19PSA107.040 He poureth contempt upon princes, and causeth them to wander in the wilderness, where there is no way. %%% Anyoomesa nnyo abalangira, Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo. 19PSA107.041 Yet setteth he the poor on high from affliction, and maketh him families like a flock. %%% Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku. N'amukolera ebika ng'ekisibo. 19PSA107.042 The righteous shall see it, and rejoice: and all iniquity shall stop her mouth. %%% Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka; N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo. 19PSA107.043 Whoso is wise, and will observe these things, even they shall understand the lovingkindness of the LORD. %%% Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama. 19PSA108.001 O God, my heart is fixed; I will sing and give praise, even with my glory. %%% Omutima gwange gunywedde, ai Katonda; Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n'ekitiibwa kyange. 19PSA108.002 Awake, psaltery and harp: I myself will awake early. %%% Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga: Nze naakeera nnyo okuzuukuka. 19PSA108.003 I will praise thee, O LORD, among the people: and I will sing praises unto thee among the nations. %%% Naakwebazanga ggwe, ai Mukama, mu mawanga: Era naayimbanga okukutendereza mu bantu. 19PSA108.004 For thy mercy is great above the heavens: and thy truth reacheth unto the clouds. %%% Kubanga okusaasira kwo kungi, kusinga eggulu: N'amazima go gatuuka mu ggulu. 19PSA108.005 Be thou exalted, O God, above the heavens: and thy glory above all the earth; %%% Ogulumizibwe, ai Katonda, okusinga eggulu: N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna. 19PSA108.006 That thy beloved may be delivered: save with thy right hand, and answer me. %%% Muganzi wo alyoke awone, Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu. 19PSA108.007 God hath spoken in his holiness; I will rejoice, I will divide Shechem, and mete out the valley of Succoth. %%% Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi. 19PSA108.008 Gilead is mine; Manasseh is mine; Ephraim also is the strength of mine head; Judah is my lawgiver; %%% Gireyaadi wange; Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka. 19PSA108.009 Moab is my washpot; over Edom will I cast out my shoe; over Philistia will I triumph. %%% Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto Yange Ndyogerera waggulu ku Firisutiya. 19PSA108.010 Who will bring me into the strong city? who will lead me into Edom? %%% Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu? 19PSA108.011 Wilt not thou, O God, who hast cast us off? and wilt not thou, O God, go forth with our hosts? %%% Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe. 19PSA108.012 Give us help from trouble: for vain is the help of man. %%% Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu. 19PSA108.013 Through God we shall do valiantly: for he it is that shall tread down our enemies. %%% Katonda ye alitukoza eby'obuzira: Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe. 19PSA109.001 Hold not thy peace, O God of my praise; %%% Tosirika, ai Katonda gwe ntendereza; 19PSA109.002 For the mouth of the wicked and the mouth of the deceitful are opened against me: they have spoken against me with a lying tongue. %%% Kubanga akamwa k'ababi n'akamwa k'obulimba bakanjasamidde: Boogedde nange n'olulimi olulimba. 19PSA109.003 They compassed me about also with words of hatred; and fought against me without a cause. %%% Era banneetooloola n'ebigambo eby'okukyawa, Ne balwana nange awatali nsonga. 19PSA109.004 For my love they are my adversaries: but I give myself unto prayer. %%% Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange: Naye nze nsaba. 19PSA109.005 And they have rewarded me evil for good, and hatred for my love. %%% Era bansasudde obubi olw'obulungi, N'okukyawa olw'okwagala kwange. 19PSA109.006 Set thou a wicked man over him: and let Satan stand at his right hand. %%% Omusseeko omuntu omubi: Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo. 19PSA109.007 When he shall be judged, let him be condemned: and let his prayer become sin. %%% Bw'asalirwa omusango, afulume nga gumusinze; Era okusaba kwe kufuuke ekibi. 19PSA109.008 Let his days be few; and let another take his office. %%% Ennaku ze zibe ntono; Omulala alye obukulu bwe. 19PSA109.009 Let his children be fatherless, and his wife a widow. %%% Abaana be babe nga tebalina kitaabwe, Ne mukazi we nnamwandu. 19PSA109.010 Let his children be continually vagabonds, and beg: let them seek their bread also out of their desolate places. %%% Abaana be babe mmomboze, basabirizenga; Banoonyenga emmere mu bifo byabwe ebyazika. 19PSA109.011 Let the extortioner catch all that he hath; and let the strangers spoil his labour. %%% Omunyazi atege byonna by'alina; B'atamanyi banyageenyage emirimu gye. 19PSA109.012 Let there be none to extend mercy unto him: neither let there be any to favour his fatherless children. %%% Anaamwongerako ekisa amubule; Anaasaasira abaana be nga tebalina kitaabwe naye abule. 19PSA109.013 Let his posterity be cut off; and in the generation following let their name be blotted out. %%% Ezzadde lye lizikirizibwe; Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe. 19PSA109.014 Let the iniquity of his fathers be remembered with the LORD; and let not the sin of his mother be blotted out. %%% Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama: So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa. 19PSA109.015 Let them be before the LORD continually, that he may cut off the memory of them from the earth. %%% Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna, Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi. 19PSA109.016 Because that he remembered not to shew mercy, but persecuted the poor and needy man, that he might even slay the broken in heart. %%% Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'oyo eyalina omutima ogumenyese, okubatta. 19PSA109.017 As he loved cursing, so let it come unto him: as he delighted not in blessing, so let it be far from him. %%% Weewaawo, yayagala okukolima, ne kutuuka gy'ali; So teyasanyukira kusaba mukisa, ne gumuba wala. 19PSA109.018 As he clothed himself with cursing like as with his garment, so let it come into his bowels like water, and like oil into his bones. %%% Era yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Ne kuyingira mu nda ye ng'amazzi, Era ng'amafuta mu magumba ge. 19PSA109.019 Let it be unto him as the garment which covereth him, and for a girdle wherewith he is girded continually. %%% Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala, Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna. 19PSA109.020 Let this be the reward of mine adversaries from the LORD, and of them that speak evil against my soul. %%% Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama, N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange. 19PSA109.021 But do thou for me, O GOD the Lord, for thy name's sake: because thy mercy is good, deliver thou me. %%% Naye olongoose ebyange, ai Katonda Mukama, olw'erinnya lyo: Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye. 19PSA109.022 For I am poor and needy, and my heart is wounded within me. %%% Kubanga nze ndi mwavu, nneetaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange. 19PSA109.023 I am gone like the shadow when it declineth: I am tossed up and down as the locust. %%% ŋŋendedde ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo: Nkuunta ng'enzige. 19PSA109.024 My knees are weak through fasting; and my flesh faileth of fatness. %%% Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange guweebuuse obutagejja. 19PSA109.025 I became also a reproach unto them: when they looked upon me they shaked their heads. %%% Era nfuuse ekivume gye bali: Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe. 19PSA109.026 Help me, O LORD my God: O save me according to thy mercy: %%% Onnyambe, ai Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli. 19PSA109.027 That they may know that this is thy hand; that thou, LORD, hast done it. %%% Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo: Nga ggwe, Mukama, wakikola. 19PSA109.028 Let them curse, but bless thou: when they arise, let them be ashamed; but let thy servant rejoice. %%% Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa: Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka. 19PSA109.029 Let mine adversaries be clothed with shame, and let them cover themselves with their own confusion, as with a mantle. %%% Abalabe bange bambale okuswazibwa, Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta. 19PSA109.030 I will greatly praise the LORD with my mouth; yea, I will praise him among the multitude. %%% Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange; Weewaawo, naamutenderezanga mu kibiina. 19PSA109.031 For he shall stand at the right hand of the poor, to save him from those that condemn his soul. %%% Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu, Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye. 19PSA110.001 The LORD said unto my Lord, Sit thou at my right hand, until I make thine enemies thy footstool. %%% Mukama agamba mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo. 19PSA110.002 The LORD shall send the rod of thy strength out of Zion: rule thou in the midst of thine enemies. %%% Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni: Ggwe fugira wakati mu balabe bo. 19PSA110.003 Thy people shall be willing in the day of thy power, in the beauties of holiness from the womb of the morning: thou hast the dew of thy youth. %%% Abantu bo beewaayo n'omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw'obuyinza bwo: Mu bulungi obw'obutukuvu, olina omusulo ogw'obuvubuka bwo, Oguva mu lubuto lw'enkya. 19PSA110.004 The LORD hath sworn, and will not repent, Thou art a priest for ever after the order of Melchizedek. %%% Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. 19PSA110.005 The Lord at thy right hand shall strike through kings in the day of his wrath. %%% Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo Alifumita bakabaka ku lunaku olw'obusungu bwe. 19PSA110.006 He shall judge among the heathen, he shall fill the places with the dead bodies; he shall wound the heads over many countries. %%% Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo; Alifumita omutwe mu nsi ennyingi. 19PSA110.007 He shall drink of the brook in the way: therefore shall he lift up the head. %%% Alinywa ku nsulo eri mu kkubo: Kyaliva ayimusa omutwe. 19PSA111.001 Praise ye the LORD. I will praise the LORD with my whole heart, in the assembly of the upright, and in the congregation. %%% Mumutendereze Mukama. Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro. 19PSA111.002 The works of the LORD are great, sought out of all them that have pleasure therein. %%% Emirimu gya Mukama mikulu, Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira. 19PSA111.003 His work is honourable and glorious: and his righteousness endureth for ever. %%% Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu: N'obutuukirivu bwe bubeerera enurembe gyonna. 19PSA111.004 He hath made his wonderful works to be remembered: the LORD is gracious and full of compassion. %%% Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo: Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira. 19PSA111.005 He hath given meat unto them that fear him: he will ever be mindful of his covenant. %%% Awa emmere abo abamutya: Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna. 19PSA111.006 He hath shewed his people the power of his works, that he may give them the heritage of the heathen. %%% Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga. 19PSA111.007 The works of his hands are verity and judgment; all his commandments are sure. %%% Emirimu egy'emikono gye ge mazima n'omusango; Ebiragiro bye byonna binywera. 19PSA111.008 They stand fast for ever and ever, and are done in truth and uprightness. %%% Biteekebwawo emirembe n'emirembe, Bikolebwawo mu mazima n'obutuukirivu. 19PSA111.009 He sent redemption unto his people: he hath commanded his covenant for ever: holy and reverend is his name. %%% Yawa abantu be okununulwa; Yalagira endagaano ye emirembe gyonna: Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa. 19PSA111.010 The fear of the LORD is the beginning of wisdom: a good understanding have all they that do his commandments: his praise endureth for ever. %%% Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna. 19PSA112.001 Praise ye the LORD. Blessed is the man that feareth the LORD, that delighteth greatly in his commandments. %%% Mumutendereze Mukama. Alina omukisa oyo atya Mukama, Asanyukira ennyo amateeka ge. 19PSA112.002 His seed shall be mighty upon earth: the generation of the upright shall be blessed. %%% Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi: Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa. 19PSA112.003 Wealth and riches shall be in his house: and his righteousness endureth for ever. %%% Ebintu n'obugagga biri mu nnyumba ye: N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna. 19PSA112.004 Unto the upright there ariseth light in the darkness: he is gracious, and full of compassion, and righteous. %%% Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza: Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu. 19PSA112.005 A good man sheweth favour, and lendeth: he will guide his affairs with discretion. %%% Alaba ebirungi oyo akola eby'ekisa, awola; Alinyweza ensonga ye bw'alisalirwa omusango. 19PSA112.006 Surely he shall not be moved for ever: the righteous shall be in everlasting remembrance. %%% Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna; Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo. 19PSA112.007 He shall not be afraid of evil tidings: his heart is fixed, trusting in the LORD. %%% Taatyenga bigambo bya bubi: Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama. 19PSA112.008 His heart is established, he shall not be afraid, until he see his desire upon his enemies. %%% Omutima gwe gutereera, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be. 19PSA112.009 He hath dispersed, he hath given to the poor; his righteousness endureth for ever; his horn shall be exalted with honour. %%% Agabye, awadde abaavu; Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna: Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa. 19PSA112.010 The wicked shall see it, and be grieved; he shall gnash with his teeth, and melt away: the desire of the wicked shall perish. %%% Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo; Aliruma obujiji n'amannyo ge: alinyolwa: Omubi by'ayagala birifa. 19PSA113.001 Praise ye the LORD. Praise, O ye servants of the LORD, praise the name of the LORD. %%% Mumutendereze Mukama. Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama, Mutendereze erinnya lya Mukama. 19PSA113.002 Blessed be the name of the LORD from this time forth and for evermore. %%% Erinnya lya Mukama lyebazibwenga Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. 19PSA113.003 From the rising of the sun unto the going down of the same the LORD's name is to be praised. %%% Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga. 19PSA113.004 The LORD is high above all nations, and his glory above the heavens. %%% Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, N'ekitiibwa kye okusinga eggulu. 19PSA113.005 Who is like unto the LORD our God, who dwelleth on high, %%% Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, Alina entebe ye waggulu. 19PSA113.006 Who humbleth himself to behold the things that are in heaven, and in the earth! %%% Eyeetoowaza okutunuulira Ebiri mu ggulu ne mu nsi? 19PSA113.007 He raiseth up the poor out of the dust, and lifteth the needy out of the dunghill; %%% Ayimusa omwavu mu nfuufu, Agolokosa omunafu mu lubungo; 19PSA113.008 That he may set him with princes, even with the princes of his people. %%% Amutuuze wamu n'abalangira, Wamu n'abalangira ab'abantu be. 19PSA113.009 He maketh the barren woman to keep house, and to be a joyful mother of children. Praise ye the LORD. %%% Atuuza mu nju omukazi omugumba, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mumutendereze Mukama. 19PSA114.001 When Israel went out of Egypt, the house of Jacob from a people of strange language; %%% Isiraeri bwe yava mu Misiri, Ennyumba ya Yakobo mu bantu ab'olulimi olulala; 19PSA114.002 Judah was his sanctuary, and Israel his dominion. %%% Yuda n'abeera awatukuvu we, Isiraeri amatwale ge. 19PSA114.003 The sea saw it, and fled: Jordan was driven back. %%% Ennyanja n'eraba ekyo, n'edduka Yoludaani n'agobebwa okudda ennyuma. 19PSA114.004 The mountains skipped like rams, and the little hills like lambs. %%% Ensozi ne zibuuka ng'endiga eza seddume, N'obusozi obutono ng'obuliga. 19PSA114.005 What ailed thee, O thou sea, that thou fleddest? thou Jordan, that thou wast driven back? %%% Wali otya, ggwe ennyanja, okudduka? Naawe Yoludaani, okudda ennyuma? 19PSA114.006 Ye mountains, that ye skipped like rams; and ye little hills, like lambs? %%% Mmwe ensozi, okubuuka ng'endiga eza seddume; Mmwe obusozi obutono, ng'obuliga? 19PSA114.007 Tremble, thou earth, at the presence of the Lord, at the presence of the God of Jacob; %%% Kankana, ggwe ensi, awali Mukama, Awali Katonda wa Yakobo; 19PSA114.008 Which turned the rock into a standing water, the flint into a fountain of waters. %%% Eyafuula ejjinja ekidiba eky'amazzi, Ery'embaalebaale oluzzi olw'amazzi. 19PSA115.001 Not unto us, O LORD, not unto us, but unto thy name give glory, for thy mercy, and for thy truth's sake. %%% Si ffe, ai Mukama, si ffe, Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go. 19PSA115.002 Wherefore should the heathen say, Where is now their God? %%% Kiki ekinaaba kiboogeza ab'amawanga Nti Katonda waabwe ali ludda wa kaakano? 19PSA115.003 But our God is in the heavens: he hath done whatsoever he hath pleased. %%% Naye Katonda waffe ali mu ggulu: Akoze bye yayagala byonna. 19PSA115.004 Their idols are silver and gold, the work of men's hands. %%% Ebifaananyi byabwe ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu. 19PSA115.005 They have mouths, but they speak not: eyes have they, but they see not: %%% Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba; 19PSA115.006 They have ears, but they hear not: noses have they, but they smell not: %%% Birina amatu, naye tebiwulira; Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza; 19PSA115.007 They have hands, but they handle not: feet have they, but they walk not: neither speak they through their throat. %%% Birina engalo, naye tebizikwasa kintu; Birina ebigere, naye tebitambula; So tebyogeza bulago bwabyo. 19PSA115.008 They that make them are like unto them; so is every one that trusteth in them. %%% Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga. 19PSA115.009 O Israel, trust thou in the LORD: he is their help and their shield. %%% Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe. 19PSA115.010 O house of Aaron, trust in the LORD: he is their help and their shield. %%% Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe. 19PSA115.011 Ye that fear the LORD, trust in the LORD: he is their help and their shield. %%% Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe. 19PSA115.012 The LORD hath been mindful of us: he will bless us; he will bless the house of Israel; he will bless the house of Aaron. %%% Mukama atujjukidde; alituwa omukisa; Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri; Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni. 19PSA115.013 He will bless them that fear the LORD, both small and great. %%% Aliwa omukisa abo abatya Mukama, Abato era n'abakulu. 19PSA115.014 The LORD shall increase you more and more, you and your children. %%% Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza Mmwe n'abaana bammwe. 19PSA115.015 Ye are blessed of the LORD which made heaven and earth. %%% Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, Eyakola eggulu n'ensi. 19PSA115.016 The heaven, even the heavens, are the LORD's: but the earth hath he given to the children of men. %%% Eggulu lye ggulu lya Mukama; Naye ensi yagiwa abaana b'abantu. 19PSA115.017 The dead praise not the LORD, neither any that go down into silence. %%% Abafu tebatendereza Mukama, Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika; 19PSA115.018 But we will bless the LORD from this time forth and for evermore. Praise the LORD. %%% Naye ffe tuneebazanga Mukama Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama. 19PSA116.001 I love the LORD, because he hath heard my voice and my supplications. %%% Mmwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange. 19PSA116.002 Because he hath inclined his ear unto me, therefore will I call upon him as long as I live. %%% Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu. 19PSA116.003 The sorrows of death compassed me, and the pains of hell gat hold upon me: I found trouble and sorrow. %%% Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata: Ne ndaba ennaku n'okutegana. 19PSA116.004 Then called I upon the name of the LORD; O LORD, I beseech thee, deliver my soul. %%% Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange. 19PSA116.005 Gracious is the LORD, and righteous; yea, our God is merciful. %%% Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira. 19PSA116.006 The LORD preserveth the simple: I was brought low, and he helped me. %%% Mukama akuuma abo abatalina nkwe: Najeezebwa, n'andokola. 19PSA116.007 Return unto thy rest, O my soul; for the LORD hath dealt bountifully with thee. %%% Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi. 19PSA116.008 For thou hast delivered my soul from death, mine eyes from tears, and my feet from falling. %%% Kubanga omponyezza emmeeme yange okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange obutagwa. 19PSA116.009 I will walk before the LORD in the land of the living. %%% Naatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu. 19PSA116.010 I believed, therefore have I spoken: I was greatly afflicted: %%% Nzikiriza, kubanga ndyogera: Nabonyaabonyezebwa nnyo: 19PSA116.011 I said in my haste, All men are liars. %%% Ne njogera nga nnyanguwa Nti Abantu bonna bulimba. 19PSA116.012 What shall I render unto the LORD for all his benefits toward me? %%% Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze? 19PSA116.013 I will take the cup of salvation, and call upon the name of the LORD. %%% Nditoola akakompe ak'obulokozi, Era ndikaabira erinnya lya Mukama. 19PSA116.014 I will pay my vows unto the LORD now in the presence of all his people. %%% Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna. 19PSA116.015 Precious in the sight of the LORD is the death of his saints. %%% Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama. 19PSA116.016 O LORD, truly I am thy servant; I am thy servant, and the son of thine handmaid: thou hast loosed my bonds. %%% Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo: Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba. 19PSA116.017 I will offer to thee the sacrifice of thanksgiving, and will call upon the name of the LORD. %%% Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Era ndikaabira erinnya lya Mukama. 19PSA116.018 I will pay my vows unto the LORD now in the presence of all his people, %%% Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna; 19PSA116.019 In the courts of the LORD's house, in the midst of thee, O Jerusalem. Praise ye the LORD. %%% Mu mpya z'ennyumba ya Mukama, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama. 19PSA117.001 O Praise the LORD, all ye nations: praise him, all ye people. %%% Mumutendereze Mukama, mmwe amawanga gonna; Mumugulumize, mmwe abantu bonna. 19PSA117.002 For his merciful kindness is great toward us: and the truth of the LORD endureth for ever. Praise ye the LORD. %%% Kubanga okusaasira kwe kungi eri ffe: N'amazima ga Mukama gabeerera emirembe gyonna, Mumutendereze Mukama. 19PSA118.001 O give thanks unto the LORD; for he is good: because his mercy endureth for ever. %%% Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA118.002 Let Israel now say, that his mercy endureth for ever. %%% Isiraeri ayogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA118.003 Let the house of Aaron now say, that his mercy endureth for ever. %%% Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA118.004 Let them now that fear the LORD say, that his mercy endureth for ever. %%% Abo abamutya Mukama boogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA118.005 I called upon the LORD in distress: the LORD answered me, and set me in a large place. %%% Bwe nnali mu nnaku ne nkaabira Mukama: Mukama n'anjitaba, n'anteeka mu kifo ekigazi. 19PSA118.006 The LORD is on my side; I will not fear: what can man do unto me? %%% Mukama ali ku luuyi lwange; siritya: Abantu bayinza kunkola ki? 19PSA118.007 The LORD taketh my part with them that help me: therefore shall I see my desire upon them that hate me. %%% Mukama ali ku luuyi lwange mu abo abannyamba: Kyendiva ndaba bye njagala nga bituuse ku abo abankyaye. 19PSA118.008 It is better to trust in the LORD than to put confidence in man. %%% Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu. 19PSA118.009 It is better to trust in the LORD than to put confidence in princes. %%% Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abalangira. 19PSA118.010 All nations compassed me about: but in the name of the LORD will I destroy them. %%% Amawanga gonna ganneetoolodde: Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza. 19PSA118.011 They compassed me about; yea, they compassed me about: but in the name of the LORD I will destroy them. %%% Ganneetoolodde; weewaawo, ganneetoolodde; Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza. 19PSA118.012 They compassed me about like bees; they are quenched as the fire of thorns: for in the name of the LORD I will destroy them. %%% Banneetoolodde ng'enjuki; bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa: Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza. 19PSA118.013 Thou hast thrust sore at me that I might fall: but the LORD helped me. %%% Bansoya nnyo okungwisa: Naye Mukama n'annyamba. 19PSA118.014 The LORD is my strength and song, and is become my salvation. %%% Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange; Era afuuse obulokozi bwange. 19PSA118.015 The voice of rejoicing and salvation is in the tabernacles of the righteous: the right hand of the LORD doeth valiantly. %%% Eddoboozi ery'essanyu era ery'obulokozi liri mu weema ez'abatuukirivu; Omukono ogwa dddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira. 19PSA118.016 The right hand of the LORD is exalted: the right hand of the LORD doeth valiantly. %%% Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa: Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira. 19PSA118.017 I shall not die, but live, and declare the works of the LORD. %%% Sirifa, naye naabeeranga mulamu, Era naabuuliranga omirimu gya Mukama. 19PSA118.018 The LORD hath chastened me sore: but he hath not given me over unto death. %%% Mukama ambonerezza nnyo: Naye tangabulanga eri okufa. 19PSA118.019 Open to me the gates of righteousness: I will go into them, and I will praise the LORD: %%% Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu: Naaziyingiramu, ne nneebaza Mukama. 19PSA118.020 This gate of the LORD, into which the righteous shall enter. %%% Olwo lwe luggi lwa Mukama; Abatuukirivu be baliyingiramu. 19PSA118.021 I will praise thee: for thou hast heard me, and art become my salvation. %%% Naakwebazanga, kubanga onzizeemu, Era ofuuse obulokozi bwange. 19PSA118.022 The stone which the builders refused is become the head stone of the corner. %%% Ejjinja abazimbi lye baagaana Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda. 19PSA118.023 This is the LORD's doing; it is marvellous in our eyes. %%% Ekyo Mukama ye yakikola; Kya kitalo mu maaso gaffe. 19PSA118.024 This is the day which the LORD hath made; we will rejoice and be glad in it. %%% Luno lwe lunaku Mukama lwe yakola; Tunaasanyuka, tunaajaguliza okwo. 19PSA118.025 Save now, I beseech thee, O LORD: O LORD, I beseech thee, send now prosperity. %%% Olokole kaakano, tukwegayiridde, ai Mukama: Ai Mukama, tukwegayiridde, oweereze omukisa kaakano. 19PSA118.026 Blessed be he that cometh in the name of the LORD: we have blessed you out of the house of the LORD. %%% Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama: Tubasabidde omukisa nga tuyima mu nnyumba ya Mukama. 19PSA118.027 God is the LORD, which hath shewed us light: bind the sacrifice with cords, even unto the horns of the altar. %%% Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana Musibe ssaddaaka n'emigwa,musibe ku mayembe g'ekyoto. 19PSA118.028 Thou art my God, and I will praise thee: thou art my God, I will exalt thee. %%% Ggwe oli Katonda wange, nange naakwebazanga: Ggwe oli Katonda wange, naakugulumizanga. 19PSA118.029 O give thanks unto the LORD; for he is good: for his mercy endureth for ever. %%% Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA119.001 Blessed are the undefiled in the way, who walk in the law of the LORD. %%% Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, Abatambulira mu mateeka ga Mukama. 19PSA119.002 Blessed are they that keep his testimonies, and that seek him with the whole heart. %%% Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwonna. 19PSA119.003 They also do no iniquity: they walk in his ways. %%% Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu; Batambulira mu makubo ge. 19PSA119.004 Thou hast commanded us to keep thy precepts diligently. %%% Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga nnyo. 19PSA119.005 O that my ways were directed to keep thy statutes! %%% Singa amakubo gange ganywedde Okukwata amateeka go! 19PSA119.006 Then shall I not be ashamed, when I have respect unto all thy commandments. %%% Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna. 19PSA119.007 I will praise thee with uprightness of heart, when I shall have learned thy righteous judgments. %%% Naakwebazanga n'omutima ogutalina bukuusa, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga. 19PSA119.008 I will keep thy statutes: O forsake me not utterly. %%% Naakwatanga amateeka go: Nkwegayiridde, tondekera ddala. BEESI 19PSA119.009 Wherewithal shall a young man cleanse his way? by taking heed thereto according to thy word. %%% Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.010 With my whole heart have I sought thee: O let me not wander from thy commandments. %%% N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira. 19PSA119.011 Thy word have I hid in mine heart, that I might not sin against thee. %%% Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go. 19PSA119.012 Blessed art thou, O LORD: teach me thy statutes. %%% Weebazibwa, ai Mukama: Onjigirizenga amateeka go. 19PSA119.013 With my lips have I declared all the judgments of thy mouth. %%% N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwako. 19PSA119.014 I have rejoiced in the way of thy testimonies, as much as in all riches. %%% Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna. 19PSA119.015 I will meditate in thy precepts, and have respect unto thy ways. %%% Naafumiitirizanga ebiragiro byo. Era naalowoozanga amakubo go. 19PSA119.016 I will delight myself in thy statutes: I will not forget thy word. %%% Naasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo. GIMERI 19PSA119.017 Deal bountifully with thy servant, that I may live, and keep thy word. %%% Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo. 19PSA119.018 Open thou mine eyes, that I may behold wondrous things out of thy law. %%% Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go. 19PSA119.019 I am a stranger in the earth: hide not thy commandments from me. %%% Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira. 19PSA119.020 My soul breaketh for the longing that it hath unto thy judgments at all times. %%% Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna. 19PSA119.021 Thou hast rebuked the proud that are cursed, which do err from thy commandments. %%% Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira. 19PSA119.022 Remove from me reproach and contempt; for I have kept thy testimonies. %%% Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga neekuumye bye wategeeza. 19PSA119.023 Princes also did sit and speak against me: but thy servant did meditate in thy statutes. %%% Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go. 19PSA119.024 Thy testimonies also are my delight and my counsellors. %%% Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo. DALESI 19PSA119.025 My soul cleaveth unto the dust: quicken thou me according to thy word. %%% Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kyo bwe kiri. 19PSA119.026 I have declared my ways, and thou heardest me: teach me thy statutes. %%% Nayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go. 19PSA119.027 Make me to understand the way of thy precepts: so shall I talk of thy wondrous works. %%% Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumutiriza emirimu gyo egy'ekitalo. 19PSA119.028 My soul melteth for heaviness: strengthen thou me according unto thy word. %%% Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.029 Remove from me the way of lying: and grant me thy law graciously. %%% Onziyeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa. 19PSA119.030 I have chosen the way of truth: thy judgments have I laid before me. %%% Neerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange. 19PSA119.031 I have stuck unto thy testimonies: O LORD, put me not to shame. %%% Neegatta n'ebyo bye wategeeza: Ai Mukama, tonkwasa nsonyi. HE 19PSA119.032 I will run the way of thy commandments, when thou shalt enlarge my heart. %%% Naddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange. 19PSA119.033 Teach me, O LORD, the way of thy statutes; and I shall keep it unto the end. %%% Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero. 19PSA119.034 Give me understanding, and I shall keep thy law; yea, I shall observe it with my whole heart. %%% Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go; Weewaawo, naagakwatanga n'omutima gwange gwonna. 19PSA119.035 Make me to go in the path of thy commandments; for therein do I delight. %%% Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira. 19PSA119.036 Incline my heart unto thy testimonies, and not to covetousness. %%% Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba. 19PSA119.037 Turn away mine eyes from beholding vanity; and quicken thou me in thy way. %%% Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go. 19PSA119.038 Stablish thy word unto thy servant, who is devoted to thy fear. %%% Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe. 19PSA119.039 Turn away my reproach which I fear: for thy judgments are good. %%% Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi. 19PSA119.040 Behold, I have longed after thy precepts: quicken me in thy righteousness. %%% Laba, neegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo. VAWU 19PSA119.041 Let thy mercies come also unto me, O LORD, even thy salvation, according to thy word. %%% Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.042 So shall I have wherewith to answer him that reproacheth me: for I trust in thy word. %%% Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga neesiga ekigambo kyo. 19PSA119.043 And take not the word of truth utterly out of my mouth; for I have hoped in thy judgments. %%% So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga naasuubiranga emisango gyo. 19PSA119.044 So shall I keep thy law continually for ever and ever. %%% Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe. 19PSA119.045 And I will walk at liberty: for I seek thy precepts. %%% Era naatambulanga nga neeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo. 19PSA119.046 I will speak of thy testimonies also before kings, and will not be ashamed. %%% Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne sikwatibwa nsonyi. 19PSA119.047 And I will delight myself in thy commandments, which I have loved. %%% Era naasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga: 19PSA119.048 My hands also will I lift up unto thy commandments, which I have loved; and I will meditate in thy statutes. %%% Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era naafumiitirizanga mateeka go. ZAYINI 19PSA119.049 Remember the word unto thy servant, upon which thou hast caused me to hope. %%% Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza. 19PSA119.050 This is my comfort in my affliction: for thy word hath quickened me. %%% Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza. 19PSA119.051 The proud have had me greatly in derision: yet have I not declined from thy law. %%% Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go. 19PSA119.052 I remembered thy judgments of old, O LORD; and have comforted myself. %%% Njijukidde emisango gyo egy'edda, ai Mukama, Ne nneesanyusa. 19PSA119.053 Horror hath taken hold upon me because of the wicked that forsake thy law. %%% Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go. 19PSA119.054 Thy statutes have been my songs in the house of my pilgrimage. %%% Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange. 19PSA119.055 I have remembered thy name, O LORD, in the night, and have kept thy law. %%% Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama, Era nakwatanga amateeka go. 19PSA119.056 This I had, because I kept thy precepts. %%% Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo. KEESI 19PSA119.057 Thou art my portion, O LORD: I have said that I would keep thy words. %%% Mukama gwe mugabo gwange: Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo. 19PSA119.058 I intreated thy favour with my whole heart: be merciful unto me according to thy word. %%% Nasaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.059 I thought on my ways, and turned my feet unto thy testimonies. %%% Nalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza. 19PSA119.060 I made haste, and delayed not to keep thy commandments. %%% Nayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira. 19PSA119.061 The bands of the wicked have robbed me: but I have not forgotten thy law. %%% Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye seerabidde mateeka go. 19PSA119.062 At midnight I will rise to give thanks unto thee because of thy righteous judgments. %%% Mu ttumbi naagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga. 19PSA119.063 I am a companion of all them that fear thee, and of them that keep thy precepts. %%% Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo. 19PSA119.064 The earth, O LORD, is full of thy mercy: teach me thy statutes. %%% Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go. TEESI 19PSA119.065 Thou hast dealt well with thy servant, O LORD, according unto thy word. %%% Okoledde ebirungi omuddu wo, Ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.066 Teach me good judgment and knowledge: for I have believed thy commandments. %%% Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira. 19PSA119.067 Before I was afflicted I went astray: but now have I kept thy word. %%% Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo. 19PSA119.068 Thou art good, and doest good; teach me thy statutes. %%% Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go. 19PSA119.069 The proud have forged a lie against me: but I will keep thy precepts with my whole heart. %%% Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo. 19PSA119.070 Their heart is as fat as grease; but I delight in thy law. %%% Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go. 19PSA119.071 It is good for me that I have been afflicted; that I might learn thy statutes. %%% Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go. 19PSA119.072 The law of thy mouth is better unto me than thousands of gold and silver. %%% Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi. YODI 19PSA119.073 Thy hands have made me and fashioned me: give me understanding, that I may learn thy commandments. %%% Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira. 19PSA119.074 They that fear thee will be glad when they see me; because I have hoped in thy word. %%% Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga naasuubiranga elugambo kyo. 19PSA119.075 I know, O LORD, that thy judgments are right, and that thou in faithfulness hast afflicted me. %%% Mmanyi, ai Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa. 19PSA119.076 Let, I pray thee, thy merciful kindness be for my comfort, according to thy word unto thy servant. %%% Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo. 19PSA119.077 Let thy tender mercies come unto me, that I may live: for thy law is my delight. %%% Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa. 19PSA119.078 Let the proud be ashamed; for they dealt perversely with me without a cause: but I will meditate in thy precepts. %%% Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo. 19PSA119.079 Let those that fear thee turn unto me, and those that have known thy testimonies. %%% Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza. 19PSA119.080 Let my heart be sound in thy statutes; that I be not ashamed. %%% Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi. KAFU 19PSA119.081 My soul fainteth for thy salvation: but I hope in thy word. %%% Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo. 19PSA119.082 Mine eyes fail for thy word, saying, When wilt thou comfort me? %%% Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi? 19PSA119.083 For I am become like a bottle in the smoke; yet do I not forget thy statutes. %%% Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye seerabira mateeka go. 19PSA119.084 How many are the days of thy servant? when wilt thou execute judgment on them that persecute me? %%% Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya? 19PSA119.085 The proud have digged pits for me, which are not after thy law. %%% Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go. 19PSA119.086 All thy commandments are faithful: they persecute me wrongfully; help thou me. %%% Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe. 19PSA119.087 They had almost consumed me upon earth; but I forsook not thy precepts. %%% Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo. 19PSA119.088 Quicken me after thy lovingkindness; so shall I keep the testimony of thy mouth. %%% Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. LAMEDI 19PSA119.089 For ever, O LORD, thy word is settled in heaven. %%% Emirembe gyonna, ai Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu. 19PSA119.090 Thy faithfulness is unto all generations: thou hast established the earth, and it abideth. %%% Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo. 19PSA119.091 They continue this day according to thine ordinances: for all are thy servants. %%% Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo. 19PSA119.092 Unless thy law had been my delights, I should then have perished in mine affliction. %%% Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa. 19PSA119.093 I will never forget thy precepts: for with them thou hast quickened me. %%% Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo. 19PSA119.094 I am thine, save me; for I have sought thy precepts. %%% Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo. 19PSA119.095 The wicked have waited for me to destroy me: but I will consider thy testimonies. %%% Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze naalowoozanga bye wategeeza. 19PSA119.096 I have seen an end of all perfection: but thy commandment is exceeding broad. %%% Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo. MEMU 19PSA119.097 O how love I thy law! it is my meditation all the day. %%% Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde. 19PSA119.098 Thou through thy commandments hast made me wiser than mine enemies: for they are ever with me. %%% Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna. 19PSA119.099 I have more understanding than all my teachers: for thy testimonies are my meditation. %%% Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza. 19PSA119.100 I understand more than the ancients, because I keep thy precepts. %%% Ntegeera okukira abakadde, Kubanga neekuumanga ebiragiro byo. 19PSA119.101 I have refrained my feet from every evil way, that I might keep thy word. %%% Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo. 19PSA119.102 I have not departed from thy judgments: for thou hast taught me. %%% Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga. 19PSA119.103 How sweet are thy words unto my taste! yea, sweeter than honey to my mouth! %%% Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange! 19PSA119.104 Through thy precepts I get understanding: therefore I hate every false way. %%% Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba. NUUNI 19PSA119.105 Thy word is a lamp unto my feet, and a light unto my path. %%% Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange. 19PSA119.106 I have sworn, and I will perform it, that I will keep thy righteous judgments. %%% Nalayira, era nkikakasizza kino, Nga naakwatanga emisango gyo egy'ensonga. 19PSA119.107 I am afflicted very much: quicken me, O LORD, according unto thy word. %%% Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.108 Accept, I beseech thee, the freewill offerings of my mouth, O LORD, and teach me thy judgments. %%% Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, ai Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo. 19PSA119.109 My soul is continually in my hand: yet do I not forget thy law. %%% Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye seerabira mateeka go. 19PSA119.110 The wicked have laid a snare for me: yet I erred not from thy precepts. %%% Ababi bantegedde omutego; Naye sikyamanga kuleka biragiro byo. 19PSA119.111 Thy testimonies have I taken as an heritage for ever: for they are the rejoicing of my heart. %%% Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggavaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange. 19PSA119.112 I have inclined mine heart to perform thy statutes alway, even unto the end. %%% Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero. SAMEKI 19PSA119.113 I hate vain thoughts: but thy law do I love. %%% Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala. 19PSA119.114 Thou art my hiding place and my shield: I hope in thy word. %%% Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo. 19PSA119.115 Depart from me, ye evildoers: for I will keep the commandments of my God. %%% Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke neekuumeaga Katonda wange bye yalagira. 19PSA119.116 Uphold me according unto thy word, that I may live: and let me not be ashamed of my hope. %%% Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange. 19PSA119.117 Hold thou me up, and I shall be safe: and I will have respect unto thy statutes continually. %%% Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe, Era neegenderezanga amateeka go ennaku zonna. 19PSA119.118 Thou hast trodden down all them that err from thy statutes: for their deceit is falsehood. %%% Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba. 19PSA119.119 Thou puttest away all the wicked of the earth like dross: therefore I love thy testimonies. %%% Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza. 19PSA119.120 My flesh trembleth for fear of thee; and I am afraid of thy judgments. %%% Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo. AYINI 19PSA119.121 I have done judgment and justice: leave me not to mine oppressors. %%% Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukuivu: Tondekera abo abanjooga. 19PSA119.122 Be surety for thy servant for good: let not the proud oppress me. %%% Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga. 19PSA119.123 Mine eyes fail for thy salvation, and for the word of thy righteousness. %%% Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu. 19PSA119.124 Deal with thy servant according unto thy mercy, and teach me thy statutes. %%% Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go. 19PSA119.125 I am thy servant; give me understanding, that I may know thy testimonies. %%% Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza. 19PSA119.126 It is time for thee, LORD, to work: for they have made void thy law. %%% Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibiza amateeka go. 19PSA119.127 Therefore I love thy commandments above gold; yea, above fine gold. %%% Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi. 19PSA119.128 Therefore I esteem all thy precepts concerning all things to be right; and I hate every false way. %%% Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba. PE 19PSA119.129 Thy testimonies are wonderful: therefore doth my soul keep them. %%% Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma. 19PSA119.130 The entrance of thy words giveth light; it giveth understanding unto the simple. %%% Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi. 19PSA119.131 I opened my mouth, and panted: for I longed for thy commandments. %%% Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira. 19PSA119.132 Look thou upon me, and be merciful unto me, as thou usest to do unto those that love thy name. %%% Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo. 19PSA119.133 Order my steps in thy word: and let not any iniquity have dominion over me. %%% Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga. 19PSA119.134 Deliver me from the oppression of man: so will I keep thy precepts. %%% Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwataaga ebiragiro byo. 19PSA119.135 Make thy face to shine upon thy servant; and teach me thy statutes. %%% Oyakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go. 19PSA119.136 Rivers of waters run down mine eyes, because they keep not thy law. %%% Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go. TIZADDE 19PSA119.137 Righteous art thou, O LORD, and upright are thy judgments. %%% Oli mutuukirivu, ai Mukama, N'emisango gyo gya nsonga. 19PSA119.138 Thy testimonies that thou hast commanded are righteous and very faithful. %%% Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala. 19PSA119.139 My zeal hath consumed me, because mine enemies have forgotten thy words. %%% Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo. 19PSA119.140 Thy word is very pure: therefore thy servant loveth it. %%% Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala. 19PSA119.141 I am small and despised: yet do not I forget thy precepts. %%% Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye seerabira biragiro byo. 19PSA119.142 Thy righteousness is an everlasting righteousness, and thy law is the truth. %%% Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima. 19PSA119.143 Trouble and anguish have taken hold on me: yet thy commandments are my delights. %%% Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa. 19PSA119.144 The righteousness of thy testimonies is everlasting: give me understanding, and I shall live. %%% Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu. KOOFU 19PSA119.145 I cried with my whole heart; hear me, O LORD: I will keep thy statutes. %%% Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama: Naakuumanga amateeka go. 19PSA119.146 I cried unto thee; save me, and I shall keep thy testimonies. %%% Nkukoowodde; ondokole, Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza. 19PSA119.147 I prevented the dawning of the morning, and cried: I hoped in thy word. %%% Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nasuubira ebigambo byo. 19PSA119.148 Mine eyes prevent the night watches, that I might meditate in thy word. %%% Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo. 19PSA119.149 Hear my voice according unto thy lovingkindness: O LORD, quicken me according to thy judgment. %%% Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, ai Mukama, ng'emisango gyo bwe giri: 19PSA119.150 They draw nigh that follow after mischief: they are far from thy law. %%% Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go. 19PSA119.151 Thou art near, O LORD; and all thy commandments are truth. %%% Ggwe oli kumpi, ai Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima. 19PSA119.152 Concerning thy testimonies, I have known of old that thou hast founded them for ever. %%% Edda n'edda namanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna. REESI 19PSA119.153 Consider mine affliction, and deliver me: for I do not forget thy law. %%% Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go. 19PSA119.154 Plead my cause, and deliver me: quicken me according to thy word. %%% Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.155 Salvation is far from the wicked: for they seek not thy statutes. %%% Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go. 19PSA119.156 Great are thy tender mercies, O LORD: quicken me according to thy judgments. %%% Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri. 19PSA119.157 Many are my persecutors and mine enemies; yet do I not decline from thy testimonies. %%% Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza. 19PSA119.158 I beheld the transgressors, and was grieved; because they kept not thy word. %%% Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo. 19PSA119.159 Consider how I love thy precepts: quicken me, O LORD, according to thy lovingkindness. %%% Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, ai Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri. 19PSA119.160 Thy word is true from the beginning: and every one of thy righteous judgments endureth for ever.%%% Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna. SINI 19PSA119.161 Princes have persecuted me without a cause: but my heart standeth in awe of thy word. %%% Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo. 19PSA119.162 I rejoice at thy word, as one that findeth great spoil. %%% Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi. 19PSA119.163 I hate and abhor lying: but thy law do I love. %%% Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala. 19PSA119.164 Seven times a day do I praise thee because of thy righteous judgments. %%% Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga. 19PSA119.165 Great peace have they which love thy law: and nothing shall offend them. %%% Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza. 19PSA119.166 LORD, I have hoped for thy salvation, and done thy commandments. %%% Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama, Era nkoze bye walagira. 19PSA119.167 My soul hath kept thy testimonies; and I love them exceedingly. %%% Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo. 19PSA119.168 I have kept thy precepts and thy testimonies: for all my ways are before thee. %%% Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go. TAWU 19PSA119.169 Let my cry come near before thee, O LORD: give me understanding according to thy word. %%% Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.170 Let my supplication come before thee: deliver me according to thy word. %%% Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri. 19PSA119.171 My lips shall utter praise, when thou hast taught me thy statutes. %%% Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go. 19PSA119.172 My tongue shall speak of thy word: for all thy commandments are righteousness. %%% Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu. 19PSA119.173 Let thine hand help me; for I have chosen thy precepts. %%% Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo. 19PSA119.174 I have longed for thy salvation, O LORD; and thy law is my delight. %%% Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa. 19PSA119.175 Let my soul live, and it shall praise thee; and let thy judgments help me. %%% Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga. 19PSA119.176 I have gone astray like a lost sheep; seek thy servant; for I do not forget thy commandments. %%% Nakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga seerabira bye walagira. 19PSA120.001 In my distress I cried unto the LORD, and he heard me. %%% Mu kunakuwala kwange nakoowoola Mukama, N'ampitaba. 19PSA120.002 Deliver my soul, O LORD, from lying lips, and from a deceitful tongue. %%% Omponye emmeeme yange, ai Mukama, eri emimwa egy'obulimba, N'eri olulimi olw'obukuusakuusa. 19PSA120.003 What shall be given unto thee? or what shall be done unto thee, thou false tongue? %%% Oliweebwa ki, olyongerwako ki nate, Ggwe olulimi olw'obukuusakuusa? 19PSA120.004 Sharp arrows of the mighty, with coals of juniper. %%% Obusaale obw'obwogi obw'abazira, Era n'amanda ag'entaseesa. 19PSA120.005 Woe is me, that I sojourn in Mesech, that I dwell in the tents of Kedar! %%% Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki Kubanga ntuula mu weema za Kedali! 19PSA120.006 My soul hath long dwelt with him that hateth peace. %%% Emmeeme yange yaakamaze ennaku nnyingi okutuula Awamu n'oyo akyawa emirembe. 19PSA120.007 I am for peace: but when I speak, they are for war. %%% Nze njagala emirembe: Naye bwe njogera, baagala okulwana. 19PSA121.001 I will lift up mine eyes unto the hills, from whence cometh my help. %%% Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa? 19PSA121.002 My help cometh from the LORD, which made heaven and earth. %%% Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi. 19PSA121.003 He will not suffer thy foot to be moved: he that keepeth thee will not slumber. %%% Taliganya kigere kyo okusagaasagana: Akukuuma taabongootenga. 19PSA121.004 Behold, he that keepeth Israel shall neither slumber nor sleep. %%% Laba, akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga. 19PSA121.005 The LORD is thy keeper: the LORD is thy shade upon thy right hand. %%% Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo. 19PSA121.006 The sun shall not smite thee by day, nor the moon by night. %%% Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro. 19PSA121.007 The LORD shall preserve thee from all evil: he shall preserve thy soul. %%% Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo. 19PSA121.008 The LORD shall preserve thy going out and thy coming in from this time forth, and even for evermore. %%% Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna. 19PSA122.001 I was glad when they said unto me, Let us go into the house of the LORD. %%% Nasanyuka bwe baŋŋamba nti Tugende mu nnyumba ya Mukama. 19PSA122.002 Our feet shall stand within thy gates, O Jerusalem. %%% Ebigere byaffe biyimiridde Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi; 19PSA122.003 Jerusalem is builded as a city that is compact together: %%% Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu: 19PSA122.004 Whither the tribes go up, the tribes of the LORD, unto the testimony of Israel, to give thanks unto the name of the LORD. %%% Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama, Okuba obujulirwa eri Isiraeri, Okwebazanga erinnya lya Mukama. 19PSA122.005 For there are set thrones of judgment, the thrones of the house of David. %%% Kubanga baateeka omwo entebe ez'okusalirako omusango, Entebe ez'ennyumba ya Dawudi. 19PSA122.006 Pray for the peace of Jerusalem: they shall prosper that love thee. %%% Musabirenga Yerusaalemi emirembe: Baliraba omukisa abakwagala. 19PSA122.007 Peace be within thy walls, and prosperity within thy palaces. %%% Emirembe gibeere mu bisenge byo, N'omukisa mu mayu go. 19PSA122.008 For my brethren and companions' sakes, I will now say, Peace be within thee. %%% Ku lwa baganda bange ne bannange Naayogera kaakano nti Emirembe gibeere mu ggwe. 19PSA122.009 Because of the house of the LORD our God I will seek thy good. %%% Olw'ennyumba ya Mukama Katonda waffe Naagezangako okukukola obulungi. 19PSA123.001 Unto thee lift I up mine eyes, O thou that dwellest in the heavens. %%% Eri ggwe nnyimusa amaaso gange, Ai ggwe atuula mu ggulu. 19PSA123.002 Behold, as the eyes of servants look unto the hand of their masters, and as the eyes of a maiden unto the hand of her mistress; so our eyes wait upon the LORD our God, until that he have mercy upon us. %%% Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe, Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, Okutuusa lw'alitusaasira. 19PSA123.003 Have mercy upon us, O LORD, have mercy upon us: for we are exceedingly filled with contempt. %%% Otusaasire, ai Mukama, otusaasire: Kubanga tujjudde nnyo okunyoomebwa 19PSA123.004 Our soul is exceedingly filled with the scorning of those that are at ease, and with the contempt of the proud. %%% Emmeeme yaffe ejjudde nnyo Okuduulirwa abo abalina emirembe, N'okunyoomebwa abo abalina amalala. 19PSA124.001 If it had not been the LORD who was on our side, now may Israel say; %%% Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano; 19PSA124.002 If it had not been the LORD who was on our side, when men rose up against us: %%% Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako: 19PSA124.003 Then they had swallowed us up quick, when their wrath was kindled against us: %%% Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako: 19PSA124.004 Then the waters had overwhelmed us, the stream had gone over our soul: %%% Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe: 19PSA124.005 Then the proud waters had gone over our soul. %%% Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe. 19PSA124.006 Blessed be the LORD, who hath not given us as a prey to their teeth. %%% Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe. 19PSA124.007 Our soul is escaped as a bird out of the snare of the fowlers: the snare is broken, and we are escaped. %%% Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi: Omutego gukutuse, naffe tuwonye. 19PSA124.008 Our help is in the name of the LORD, who made heaven and earth. %%% Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi. 19PSA125.001 They that trust in the LORD shall be as mount Zion, which cannot be removed, but abideth for ever. %%% Abeesiga Mukama Baliŋŋanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna. 19PSA125.002 As the mountains are round about Jerusalem, so the LORD is round about his people from henceforth even for ever. %%% Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, Ne Mukama bw'atyo bwe yeetooloola abantu be, Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna. 19PSA125.003 For the rod of the wicked shall not rest upon the lot of the righteous; lest the righteous put forth their hands unto iniquity. %%% Kubanga omuggo ogufuga ogw'obubi tegulibeererawo ku mugabo ogw'abatuukirivu; Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana: 19PSA125.004 Do good, O LORD, unto those that be good, and to them that are upright in their hearts. %%% Obakolenga ebirungi, ai Mukama, abalungi, N'abo abalina emitima egitali gya bukuusa. 19PSA125.005 As for such as turn aside unto their crooked ways, the LORD shall lead them forth with the workers of iniquity: but peace shall be upon Israel. %%% Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe agakyamye, Mukama alibafulumya wamu n'abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibeere ku Isiraeri. 19PSA126.001 When the LORD turned again the captivity of Zion, we were like them that dream. %%% Mukama bwe yazza nate obusibe bwa Sayuuni, Ne tufaanana ng'abo abaloota. 19PSA126.002 Then was our mouth filled with laughter, and our tongue with singing: then said they among the heathen, The LORD hath done great things for them. %%% Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe okuyimba: Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti Mukama abakoledde ebikulu. 19PSA126.003 The LORD hath done great things for us; whereof we are glad. %%% Mukama atukoledde ebikulu; Kyetuvudde tusanyuka. 19PSA126.004 Turn again our captivity, O LORD, as the streams in the south. %%% Ozze nate obusibe bwaffe, ai Mukama, Ng'emigga mu bukiika obwa ddyo. 19PSA126.005 They that sow in tears shall reap in joy. %%% Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka. 19PSA126.006 He that goeth forth and weepeth, bearing precious seed, shall doubtless come again with rejoicing, bringing his sheaves with him. %%% Newakubadde nga yagenda ng'akaaba, ng'atwala ensigo; Alidda nate n'essanyu, ng'aleeta ebinywa bye. 19PSA127.001 Except the LORD build the house, they labour in vain that build it: except the LORD keep the city, the watchman waketh but in vain. %%% Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere: Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere. 19PSA127.002 It is vain for you to rise up early, to sit up late, to eat the bread of sorrows: for so he giveth his beloved sleep. %%% Mukolera bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka; Era bwe mulya emmere ey'okutegana: Kubanga bw'abawa bw'atyo otulo abaagalwa be. 19PSA127.003 Lo, children are an heritage of the LORD: and the fruit of the womb is his reward. %%% Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye. 19PSA127.004 As arrows are in the hand of a mighty man; so are children of the youth. %%% Ng'obusaale bwe buli mu mukono gw'omuzira, Abaana ab'omu buvubuka bwe bali bwe batyo. 19PSA127.005 Happy is the man that hath his quiver full of them: they shall not be ashamed, but they shall speak with the enemies in the gate. %%% Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo: Tebaakwatibwenga nsonyi, Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango. 19PSA128.001 Blessed is every one that feareth the LORD; that walketh in his ways. %%% Alina omukisa buli atya Mukama, Atambulira mu makubo ge. 19PSA128.002 For thou shalt eat the labour of thine hands: happy shalt thou be, and it shall be well with thee. %%% Kubanga onoolyanga emirimu egy'emikono gyo: Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi. 19PSA128.003 Thy wife shall be as a fruitful vine by the sides of thine house: thy children like olive plants round about thy table. %%% Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nju ez'omunda mu nnyumba yo: Abaana bo ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo. 19PSA128.004 Behold, that thus shall the man be blessed that feareth the LORD. %%% Laba, bw'atyo bw'aliweebwa omukisa omuntu Atya Mukama. 19PSA128.005 The LORD shall bless thee out of Zion: and thou shalt see the good of Jerusalem all the days of thy life. %%% Mukama anaakuwanga omukisa ng'ayima mu Sayuuni: Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez'obulamu bwo. 19PSA128.006 Yea, thou shalt see thy children's children, and peace upon Israel. %%% Weewaawo, oliraba abaana b'abaana bo. Emirembe gibeere ku Isiraeri. 19PSA129.001 Many a time have they afflicted me from my youth, may Israel now say: %%% Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange Isiraeri ayogere kaakano; 19PSA129.002 Many a time have they afflicted me from my youth: yet they have not prevailed against me. %%% Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange: Naye ne batampangula. 19PSA129.003 The plowers plowed upon my back: they made long their furrows. %%% Abakabala baakabala omugongo gwange; Baatema ensalosalo empanvu, 19PSA129.004 The LORD is righteous: he hath cut asunder the cords of the wicked. %%% Mukama mutuukirivu: Asazeesaze emigwa egy'ababi. 19PSA129.005 Let them all be confounded and turned back that hate Zion. %%% Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe ennyuma, Bonna abakyawa Sayuuni. 19PSA129.006 Let them be as the grass upon the housetops, which withereth afore it groweth up: %%% Babe ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, Oguwotoka nga tegunnakula: 19PSA129.007 Wherewith the mower filleth not his hand; nor he that bindeth sheaves his bosom. %%% Omukunguzi n'atajjuza ogwo omukono gwe, Newakubadde asiba ebinywa ekifuba kye. 19PSA129.008 Neither do they which go by say, The blessing of the LORD be upon you: we bless you in the name of the LORD. %%% Newakubadde abayita teboogera Nti Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe; Tubawadde omukisa mu linnya lya Mukama. 19PSA130.001 Out of the depths have I cried unto thee, O LORD. %%% Mu buziba nkukaabidde ggwe, ai Mukama. 19PSA130.002 Lord, hear my voice: let thine ears be attentive to the voice of my supplications. %%% Mukama, owulire eddoboozi lyange: Amatu go galowooze Eddoboozi ery'okwegayirira kwange. 19PSA130.003 If thou, LORD, shouldest mark iniquities, O Lord, who shall stand? %%% Mukama, bw'onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa? 19PSA130.004 But there is forgiveness with thee, that thou mayest be feared. %%% Naye waliwo okusonyiwa w'oli, Olyoke otiibwenga. 19PSA130.005 I wait for the LORD, my soul doth wait, and in his word do I hope. %%% Nnindirira Mukama, emmeeme yange erinda, Era ekigambo kye kye nsuubira. 19PSA130.006 My soul waiteth for the Lord more than they that watch for the morning: I say, more than they that watch for the morning. %%% Emmeeme yange eyaayaanira Mukama, Okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya; Weewaawo, okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya. 19PSA130.007 Let Israel hope in the LORD: for with the LORD there is mercy, and with him is plenteous redemption. %%% Ggwe Isiraeri, suubiranga Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okusaasira, Era awali ye we wali okununula okungi. 19PSA130.008 And he shall redeem Israel from all his iniquities. %%% Era oyo alinunula Isiraeri Mu butali butuukirivu bwe bwonna. 19PSA131.001 Lord, my heart is not haughty, nor mine eyes lofty: neither do I exercise myself in great matters, or in things too high for me. %%% Mukama omutima gwange si gwa malala, newakubadde amaaso gange tegeegulumiza; So sitambulira mu bigambo ebikulu. Newakubadde mu bigambo eby'ekitalo ebinnema. 19PSA131.002 Surely I have behaved and quieted myself, as a child that is weaned of his mother: my soul is even as a weaned child. %%% Mazima ŋŋonzezza emmeeme yange, ngisirisizza; Ng'omwana avudde ku mabeere awali nnyina, N'emmeeme yange eri we ndi bw'etyo ng'omwana avudde ku mabeere. 19PSA131.003 Let Israel hope in the LORD from henceforth and for ever. %%% Ggwe Isiraeri suubiranga Mukama Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna. 19PSA132.001 Lord, remember David, and all his afflictions: %%% Mukama, ojjuukirire Dawudi Okubonaabona kwe kwonna. 19PSA132.002 How he sware unto the LORD, and vowed unto the mighty God of Jacob; %%% Bwe yalayirira Mukama, Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo: 19PSA132.003 Surely I will not come into the tabernacle of my house, nor go up into my bed; %%% Mazima siriyingira mu weema ey'ennyumba yange, So siririnnya ku kiriri kyange; 19PSA132.004 I will not give sleep to mine eyes, or slumber to mine eyelids, %%% Siriwa amaaso gange okwebaka, Newakubadde enkowekowe zange Otulo; 19PSA132.005 Until I find out a place for the LORD, an habitation for the mighty God of Jacob. %%% Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo, Eweema ey'Omuzira wa Yakobo. 19PSA132.006 Lo, we heard of it at Ephratah: we found it in the fields of the wood. %%% Laba, twagiwulirako mu Efulasa: Twagiraba mu nnimiro ey'ekibira. 19PSA132.007 We will go into his tabernacles: we will worship at his footstool. %%% Tuliyingira mu weema ze; Tulisinziza awali entebe y'ebigere bye. 19PSA132.008 Arise, O LORD, into thy rest; thou, and the ark of thy strength. %%% Golokoka, ai Mukama, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu; Ggwe, n'essanduuko ey'amaanyi go. 19PSA132.009 Let thy priests be clothed with righteousness; and let thy saints shout for joy. %%% Bakabona bo bambale obutuukirivu; N'abatukuvu bo boogerere waggulu olw'essanyu. 19PSA132.010 For thy servant David's sake turn not away the face of thine anointed. %%% Ku lw'omuddu wo Dawudi Togoba maaso g'oyo gwe wafukako amafuta. 19PSA132.011 The LORD hath sworn in truth unto David; he will not turn from it; Of the fruit of thy body will I set upon thy throne. %%% Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka: Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo. 19PSA132.012 If thy children will keep my covenant and my testimony that I shall teach them, their children shall also sit upon thy throne for evermore. %%% Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna. 19PSA132.013 For the LORD hath chosen Zion; he hath desired it for his habitation. %%% Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni; Yakiyaayaanira okukituulamu. 19PSA132.014 This is my rest for ever: here will I dwell; for I have desired it. %%% Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna: Wano we nnaatuulanga; kubanga nayaayaanirawo. 19PSA132.015 I will abundantly bless her provision: I will satisfy her poor with bread. %%% Naakiwanga omukisa mungi ekyengera kyakyo: Nakkusanga abaavu baakyo emmere. 19PSA132.016 I will also clothe her priests with salvation: and her saints shall shout aloud for joy. %%% Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi: N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu. 19PSA132.017 There will I make the horn of David to bud: I have ordained a lamp for mine anointed. %%% Eyo gye ndyanyisiza ejjembe lya Dawudi: Namuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta. 19PSA132.018 His enemies will I clothe with shame: but upon himself shall his crown flourish. %%% Abalabe be ndibambaza ensonyi: Naye ku mutwe gwe engule ye eriraba omukisa. 19PSA133.001 Behold, how good and how pleasant it is for brethren to dwell together in unity! %%% Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, Ab'oluganda okutuula awamu nga batabaganye! 19PSA133.002 It is like the precious ointment upon the head, that ran down upon the beard, even Aaron's beard: that went down to the skirts of his garments; %%% Kuliŋŋanga amafuta ag'omuwendo omungi agali ku mutwe, Agaakulukutira mu kirevu, Mu kirevu kya Alooni; Agaaserengetera ku lukugiro lw'ebyambalo bye; 19PSA133.003 As the dew of Hermon, and as the dew that descended upon the mountains of Zion: for there the LORD commanded the blessing, even life for evermore. %%% Ng'omusulo gwa Kerumooni, Ogukkira ku nsozi za Sayuuni: Kubanga eyo Mukama gye yalagirira omukisa, Bwe bulamu obw'emirembe n'emirembe. 19PSA134.001 Behold, bless ye the LORD, all ye servants of the LORD, which by night stand in the house of the LORD. %%% Mulabe, mumwebaze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, Abayimirira ekiro mu nnyumba ya Mukama. 19PSA134.002 Lift up your hands in the sanctuary, and bless the LORD. %%% Muyimuse engalo zammwe eri awatukuvu, Mumwebaze Mukama. 19PSA134.003 The LORD that made heaven and earth bless thee out of Zion. %%% Mukama akuwe omukisa ng'ayima mu Sayuuni; Oyo eyakola eggulu n'ensi. 19PSA135.001 Praise ye the LORD. Praise ye the name of the LORD; praise him, O ye servants of the LORD. %%% 1 Mumutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama, Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama: 19PSA135.002 Ye that stand in the house of the LORD, in the courts of the house of our God, %%% Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe. 19PSA135.003 Praise the LORD; for the LORD is good: sing praises unto his name; for it is pleasant. %%% Mumutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi: Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu. 19PSA135.004 For the LORD hath chosen Jacob unto himself, and Israel for his peculiar treasure. %%% Kubanga Mukama yeeroboza Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba ow'envuma ye yekka. 19PSA135.005 For I know that the LORD is great, and that our Lord is above all gods. %%% Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna. 19PSA135.006 Whatsoever the LORD pleased, that did he in heaven, and in earth, in the seas, and all deep places. %%% Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna. 19PSA135.007 He causeth the vapours to ascend from the ends of the earth; he maketh lightnings for the rain; he bringeth the wind out of his treasuries. %%% Anyoosa omukka okuva ku nkomerero z'ensi; Aleetera enjota enkuba; Afulumya empewo mu mawanika ge. 19PSA135.008 Who smote the firstborn of Egypt, both of man and beast. %%% Eyakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo. 19PSA135.009 Who sent tokens and wonders into the midst of thee, O Egypt, upon Pharaoh, and upon all his servants. %%% Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna. 19PSA135.010 Who smote great nations, and slew mighty kings; %%% Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi; 19PSA135.011 Sihon king of the Amorites, and Og king of Bashan, and all the kingdoms of Canaan: %%% Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka w'e Basani, N'amatwale gonna aga Kanani: 19PSA135.012 And gave their land for an heritage, an heritage unto Israel his people. %%% N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be. 19PSA135.013 Thy name, O LORD, endureth for ever; and thy memorial, O LORD, throughout all generations. %%% Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna; N'ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna. 19PSA135.014 For the LORD will judge his people, and he will repent himself concerning his servants. %%% Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be, Era alyejjusa mu bigambo eby'abaddu be. 19PSA135.015 The idols of the heathen are silver and gold, the work of men's hands. %%% Ebifaananyi eby'amawanga ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu. 19PSA135.016 They have mouths, but they speak not; eyes have they, but they see not; %%% Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba; 19PSA135.017 They have ears, but they hear not; neither is there any breath in their mouths. %%% Birina amatu, naye tebiwulira; So tewali mukka mu bumwa bwabyo. 19PSA135.018 They that make them are like unto them: so is every one that trusteth in them. %%% Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga. 19PSA135.019 Bless the LORD, O house of Israel: bless the LORD, O house of Aaron: %%% Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mumwebaze Mukama: Mmwe ennyumba ya Alooni, mumwebaze Mukama: 19PSA135.020 Bless the LORD, O house of Levi: ye that fear the LORD, bless the LORD. %%% Mmwe ennyumba ya Leevi, mumwebaze Mukama: Mmwe abatya Mukama, mumwebaze Mukama. 19PSA135.021 Blessed be the LORD out of Zion, which dwelleth at Jerusalem. Praise ye the LORD. %%% Mukama yeebazibwe okuva mu Sayuuni, Atuula mu Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama. 19PSA136.001 O give thanks unto the LORD; for he is good: for his mercy endureth for ever. %%% Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.002 O give thanks unto the God of gods: for his mercy endureth for ever. %%% Mumwebaze Katonda wa bakatonda: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.003 O give thanks to the Lord of lords: for his mercy endureth for ever. %%% Mumwebaze Mukama w'abaami: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.004 To him who alone doeth great wonders: for his mercy endureth for ever. %%% Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.005 To him that by wisdom made the heavens: for his mercy endureth for ever. %%% Oyo eyakola eggulu n'amagezi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.006 To him that stretched out the earth above the waters: for his mercy endureth for ever. %%% Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.007 To him that made great lights: for his mercy endureth for ever: %%% Oyo eyakola ebyaka ebikulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.008 The sun to rule by day: for his mercy endureth for ever: %%% Enjuba okufuga emisana: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.009 The moon and stars to rule by night: for his mercy endureth for ever. %%% Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.010 To him that smote Egypt in their firstborn: for his mercy endureth for ever: %%% Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.011 And brought out Israel from among them: for his mercy endureth for ever: %%% N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.012 With a strong hand, and with a stretched out arm: for his mercy endureth for ever. %%% N'engalo ez'amaanyi, n'omukono omugolole: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.013 To him which divided the Red sea into parts: for his mercy endureth for ever: %%% Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.014 And made Israel to pass through the midst of it: for his mercy endureth for ever: %%% N'ayisa Isiraeri wakati mu yo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: 19PSA136.015 But overthrew Pharaoh and his host in the Red sea: for his mercy endureth for ever. %%% Naye n'asuulira Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.016 To him which led his people through the wilderness: for his mercy endureth for ever. %%% Oyo eyaluŋŋamiza abantu be mu ddungu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.017 To him which smote great kings: for his mercy endureth for ever: %%% Oyo eyakuba bakabaka abakulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: 19PSA136.018 And slew famous kings: for his mercy endureth for ever: %%% N'atta bakabaka abaatiikirivu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: 19PSA136.019 Sihon king of the Amorites: for his mercy endureth for ever: %%% Sikoni kabaka w'Abamoli: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: 19PSA136.020 And Og the king of Bashan: for his mercy endureth for ever: %%% Ne Ogi kabaka w'e Basani: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: 19PSA136.021 And gave their land for an heritage: for his mercy endureth for ever: %%% N'agaba ensi yaabwe okuba obusika: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: 19PSA136.022 Even an heritage unto Israel his servant: for his mercy endureth for ever. %%% Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.023 Who remembered us in our low estate: for his mercy endureth for ever: %%% Eyatujjukira bwe twajeera: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: 19PSA136.024 And hath redeemed us from our enemies: for his mercy endureth for ever. %%% N'atuwonya eri abalabe baffe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.025 Who giveth food to all flesh: for his mercy endureth for ever. %%% Awa ebyokulya ebirina emibiri byonna: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA136.026 O give thanks unto the God of heaven: for his mercy endureth for ever. %%% Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. 19PSA137.001 By the rivers of Babylon, there we sat down, yea, we wept, when we remembered Zion. %%% Okumpi n'emigga egy'e Babulooni, Twatuulawo wansi, weewaawo, ne tukaaba amaziga: Bwe twajjukira Sayuuni. 19PSA137.002 We hanged our harps upon the willows in the midst thereof. %%% Ku miti egyali wakati mu kyo Ne tuwaaikako ennanga zaffe. 19PSA137.003 For there they that carried us away captive required of us a song; and they that wasted us required of us mirth, saying, Sing us one of the songs of Zion. %%% Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagirira eyo okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni. 19PSA137.004 How shall we sing the LORD's song in a strange land? %%% Tunaayimbanga tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe? 19PSA137.005 If I forget thee, O Jerusalem, let my right hand forget her cunning. %%% Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gwerabirenga amagezi gaagwo. 19PSA137.006 If I do not remember thee, let my tongue cleave to the roof of my mouth; if I prefer not Jerusalem above my chief joy. %%% Olulimi lwange lwegattenga n'ekibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange ekkulu. 19PSA137.007 Remember, O LORD, the children of Edom in the day of Jerusalem; who said, Rase it, rase it, even to the foundation thereof. %%% Ojjukire, ai Mukama, ku baana ba Edomu Olunaku olw'e Yerusaalemi; Abaayogera nti Kisuule, kisuule, Era n’emisingi gyakyo. 19PSA137.008 O daughter of Babylon, who art to be destroyed; happy shall he be, that rewardeth thee as thou hast served us. %%% Ggwe omuwala ow'e Babulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe. 19PSA137.009 Happy shall he be, that taketh and dasheth thy little ones against the stones. %%% Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka ku jjinja. 19PSA138.001 I will praise thee with my whole heart: before the gods will I sing praise unto thee. %%% Nneebazanga n'omutima gwange gwonna: Mu maaso ga bakatonda naayimbanga okukutendereza. 19PSA138.002 I will worship toward thy holy temple, and praise thy name for thy lovingkindness and for thy truth: for thou hast magnified thy word above all thy name. %%% Nnaasinzizanga eri yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go: Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna. 19PSA138.003 In the day when I cried thou answeredst me, and strengthenedst me with strength in my soul. %%% Ku lunaku lwe nnakaabirirako wampitaba, N'oŋŋumya n'amaanyi mu mmeema yange. 19PSA138.004 All the kings of the earth shall praise thee, O LORD, when they hear the words of thy mouth. %%% Bakabaka bonna ab'ensi balikwebaza, ai Mukama, Kubanga bawulidde ebigambo eby'akamwa ko. 19PSA138.005 Yea, they shall sing in the ways of the LORD: for great is the glory of the LORD. %%% Weewaawo, baliyimba ku makubo ga Mukama; Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi. 19PSA138.006 Though the LORD be high, yet hath he respect unto the lowly: but the proud he knoweth afar off. %%% Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye n'alowooza abeetoowaza: Naye ab'amalala abamanya ng'ayima wala. 19PSA138.007 Though I walk in the midst of trouble, thou wilt revive me: thou shalt stretch forth thine hand against the wrath of mine enemies, and thy right hand shall save me. %%% Newakubadde nga ntambulira wakati mu nnaku, olinzuukiza; Oligolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo gulindokola. 19PSA138.008 The LORD will perfect that which concerneth me: thy mercy, O LORD, endureth for ever: forsake not the works of thine own hands. %%% Mukama alituukiriza ebigambo ebinfaako: Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe. 19PSA139.001 O LORD, thou hast searched me, and known me. %%% Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya. 19PSA139.002 Thou knowest my downsitting and mine uprising, thou understandest my thought afar off. %%% Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala. 19PSA139.003 Thou compassest my path and my lying down, and art acquainted with all my ways. %%% Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna. 19PSA139.004 For there is not a word in my tongue, but, lo, O LORD, thou knowest it altogether. %%% Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, ai Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala. 19PSA139.005 Thou hast beset me behind and before, and laid thine hand upon me. %%% Onzingizizza mu maaso n'ennyuma, Era ontaddeko omukono gwo. 19PSA139.006 Such knowledge is too wonderful for me; it is high, I cannot attain unto it. %%% Okumanya okuliŋŋanga okwo kwa kitalo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako. 19PSA139.007 Whither shall I go from thy spirit? or whither shall I flee from thy presence? %%% Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go? 19PSA139.008 If I ascend up into heaven, thou art there: if I make my bed in hell, behold, thou art there. %%% Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli: Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli. 19PSA139.009 If I take the wings of the morning, and dwell in the uttermost parts of the sea; %%% Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo; 19PSA139.010 Even there shall thy hand lead me, and thy right hand shall hold me. %%% Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata. 19PSA139.011 If I say, Surely the darkness shall cover me; even the night shall be light about me. %%% Bwe ndyogera nti Enzikiza teereme kumbikkako, N'omusana ogunneetoolodde gunaaba ekiro; 19PSA139.012 Yea, the darkness hideth not from thee; but the night shineth as the day: the darkness and the light are both alike to thee. %%% Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, Naye ekiro kyaka ng'omusana: Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli. 19PSA139.013 For thou hast possessed my reins: thou hast covered me in my mother's womb. %%% Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange. 19PSA139.014 I will praise thee; for I am fearfully and wonderfully made: marvellous are thy works; and that my soul knoweth right well. %%% Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala. 19PSA139.015 My substance was not hid from thee, when I was made in secret, and curiously wrought in the lowest parts of the earth. %%% Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi. 19PSA139.016 Thine eyes did see my substance, yet being unperfect; and in thy book all my members were written, which in continuance were fashioned, when as yet there was none of them. %%% Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. 19PSA139.017 How precious also are thy thoughts unto me, O God! how great is the sum of them! %%% Era n'ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu nga bingi! 19PSA139.018 If I should count them, they are more in number than the sand: when I awake, I am still with thee. %%% Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo: Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe. 19PSA139.019 Surely thou wilt slay the wicked, O God: depart from me therefore, ye bloody men. %%% Tolirema kutta babi, ai Katonda: Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi. 19PSA139.020 For they speak against thee wickedly, and thine enemies take thy name in vain. %%% Kubanga bakwogerako bubi, N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo. 19PSA139.021 Do not I hate them, O LORD, that hate thee? and am not I grieved with those that rise up against thee? %%% Sibakyawa abo, ai Mukama, abakukyawa ggwe? Sinyiigira abo abakugolokokerako? 19PSA139.022 I hate them with perfect hatred: I count them mine enemies. %%% Mbakyawa okukyawa okutuukiridde Mbayita balabe bange. 19PSA139.023 Search me, O God, and know my heart: try me, and know my thoughts: %%% Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: Onkeme, omanye ebirowoozo byange: 19PSA139.024 And see if there be any wicked way in me, and lead me in the way everlasting. %%% Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze, Era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma. 19PSA140.001 Deliver me, O LORD, from the evil man: preserve me from the violent man; %%% Omponye, ai Mukama, eri omubi; Onkuume eri omutemu: 19PSA140.002 Which imagine mischiefs in their heart; continually are they gathered together for war. %%% Abayiiya ettima mu mutima gwabwe; Bakuŋŋaananga bulijjo okulwana. 19PSA140.003 They have sharpened their tongues like a serpent; adders' poison is under their lips. Selah. %%% Basongodde olulimi lwabwe ng'omusota; Obusagwa bw'essalambwa buli wansi w'emimwa gyabwe. (Seera) 19PSA140.004 Keep me, O LORD, from the hands of the wicked; preserve me from the violent man; who have purposed to overthrow my goings. %%% Onkuume, ai Mukama, eri emikono gy'ababi; Omponye eri omutemu: Abateesezza okukyamya ebigere byange olw'amaanyi. 19PSA140.005 The proud have hid a snare for me, and cords; they have spread a net by the wayside; they have set gins for me. Selah. %%% Ab'amalala bantegedde omutego n'emigwa; Bayaze ekitimba mu kkubo: Bantegedde ebyambika. (Seera) 19PSA140.006 I said unto the LORD, Thou art my God: hear the voice of my supplications, O LORD. %%% Nagamba Mukama nti Ggwe oli Katonda wange: Owulire eddoboozi ery'okwegayirira kwange, ai Mukama. 19PSA140.007 O GOD the Lord, the strength of my salvation, thou hast covered my head in the day of battle. %%% Ai Katonda Mukama, amaanyi ag'obulokozi bwange. Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo. 19PSA140.008 Grant not, O LORD, the desires of the wicked: further not his wicked device; lest they exalt themselves. Selah. %%% Tokkiriza, ai Mukama, omubi by'ayagala; Toyamba lukwe lwe olubi; baleme okwegulumizanga. (Seera) 19PSA140.009 As for the head of those that compass me about, let the mischief of their own lips cover them. %%% Omutwe gwabwe abanneetooloola, Ettima ery'emimwa gyabwe bo libabikkengako. 19PSA140.010 Let burning coals fall upon them: let them be cast into the fire; into deep pits, that they rise not up again. %%% Amanda agookya gabagweko: Basuulibwe mu muliro; Mu bunnya obuwanvu, baleme okugolokokanga nate. 19PSA140.011 Let not an evil speaker be established in the earth: evil shall hunt the violent man to overthrow him. %%% Ayogera obubi taanywerenga mu nsi: Obubi bunaayigganyanga omutemu okumusuula. 19PSA140.012 I know that the LORD will maintain the cause of the afflicted, and the right of the poor. %%% Mmanyi nga Mukama aliwoza omusango gw'abo ababonyaabonyezebwa, N'ensonga ey'abanaku. 19PSA140.013 Surely the righteous shall give thanks unto thy name: the upright shall dwell in thy presence. %%% Abatuukirivu tebalirema kwebaza linnya lyo: Ab'amazima balituula w'oli. 19PSA141.001 Lord, I cry unto thee: make haste unto me; give ear unto my voice, when I cry unto thee. %%% Mukama, nkukaabidde; oyanguwe okujja gye ndi: Owulire eddoboozi lyange, bwe nkukaabira. 19PSA141.002 Let my prayer be set forth before thee as incense; and the lifting up of my hands as the evening sacrifice. %%% Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng'omugavu; Okugololwa kw'emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi. 19PSA141.003 Set a watch, O LORD, before my mouth; keep the door of my lips. %%% Ossengawo okulabirira, ai Mukama, ku kamwa kange: Okuumenga omulyango gw'emimwa gyange. 19PSA141.004 Incline not my heart to any evil thing, to practise wicked works with men that work iniquity: and let me not eat of their dainties. %%% Tokyusanga mutima gwange eri ekibi kyonna. Okugenderera ebikolwa eby'obubi Awamu: n'abo abakola ebitali bya butuukirivu: So nnemenga okulya ku mmere yaabwe empoomerevu. 19PSA141.005 Let the righteous smite me; it shall be a kindness: and let him reprove me; it shall be an excellent oil, which shall not break my head: for yet my prayer also shall be in their calamities. %%% Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa; Era ambuulirirenga, ng'amafuta ku mutwe; Omutwe gwange gulemenga okugagaana: Kuba newakubadde, mu bubi bwabwe okusaba kwange kunaabeererangawo. 19PSA141.006 When their judges are overthrown in stony places, they shall hear my words; for they are sweet. %%% Abalamuzi baabwe basuulibwa ku mabbali g'ejjinja; Nabo baliwulira ebigambo byange; kubanga biwoomerevu. 19PSA141.007 Our bones are scattered at the grave's mouth, as when one cutteth and cleaveth wood upon the earth. %%% Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaffe bwe gatyo gasaasaanidde ku kamwa k'amagombe. 19PSA141.008 But mine eyes are unto thee, O GOD the Lord: in thee is my trust; leave not my soul destitute. %%% Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, ai Katonda Mukama: Nkwesiga ggwe; toleka mmeeme yange nga teriiko anannyamba. 19PSA141.009 Keep me from the snares which they have laid for me, and the gins of the workers of iniquity. %%% Onkuume eri omutego gwe bantegedde, N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu. 19PSA141.010 Let the wicked fall into their own nets, whilst that I withal escape. %%% Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo, Naye nze nga mpona. 19PSA142.001 I cried unto the LORD with my voice; with my voice unto the LORD did I make my supplication. %%% Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange neegayirira Mukama. 19PSA142.002 I poured out my complaint before him; I shewed before him my trouble. %%% Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza; 19PSA142.003 When my spirit was overwhelmed within me, then thou knewest my path. In the way wherein I walked have they privily laid a snare for me. %%% Omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange. Mu kkubo lye ntambuliramu bankwekeddemu omutego. 19PSA142.004 I looked on my right hand, and beheld, but there was no man that would know me: refuge failed me; no man cared for my soul. %%% Mutunule ku mukono gwange ogwa ddyo, mulabe; kubanga tewali muntu ammanyi: Ekiddukiro kimbuze; tewali muntu ayagala emmeeme yange: 19PSA142.005 I cried unto thee, O LORD: I said, Thou art my refuge and my portion in the land of the living. %%% Nakukoowoola ggwe, ai Mukama; Nayogera nti Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu. 19PSA142.006 Attend unto my cry; for I am brought very low: deliver me from my persecutors; for they are stronger than I. %%% Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo: Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi. 19PSA142.007 Bring my soul out of prison, that I may praise thy name: the righteous shall compass me about; for thou shalt deal bountifully with me. %%% Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, neebazenga erinnya lyo: Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi. 19PSA143.001 Hear my prayer, O LORD, give ear to my supplications: in thy faithfulness answer me, and in thy righteousness. %%% Owulire okusaba kwange, ai Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo. 19PSA143.002 And enter not into judgment with thy servant: for in thy sight shall no man living be justified. %%% So tosalanga musango gwa muddu wo; Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga. 19PSA143.003 For the enemy hath persecuted my soul; he hath smitten my life down to the ground; he hath made me to dwell in darkness, as those that have been long dead. %%% Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi: Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda. 19PSA143.004 Therefore is my spirit overwhelmed within me; my heart within me is desolate. %%% Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; Omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba. 19PSA143.005 I remember the days of old; I meditate on all thy works; I muse on the work of thy hands. %%% Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo. 19PSA143.006 I stretch forth my hands unto thee: my soul thirsteth after thee, as a thirsty land. Selah. %%% Nnyanjuluza engalo zange eri ggwe: Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng'ensi ekooye. (Seera) 19PSA143.007 Hear me speedily, O LORD: my spirit faileth: hide not thy face from me, lest I be like unto them that go down into the pit. %%% Oyanguwe okumpitaba, ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo: Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakkira mu bunnya. 19PSA143.008 Cause me to hear thy lovingkindness in the morning; for in thee do I trust: cause me to know the way wherein I should walk; for I lift up my soul unto thee. %%% Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe. 19PSA143.009 Deliver me, O LORD, from mine enemies: I flee unto thee to hide me. %%% Omponye, ai Mukama, eri abalabe bange: Nziruka okujja w'oli okwekisa. 19PSA143.010 Teach me to do thy will; for thou art my God: thy spirit is good; lead me into the land of uprightness. %%% Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange: Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey'obutuukirivu. 19PSA143.011 Quicken me, O LORD, for thy name's sake: for thy righteousness' sake bring my soul out of trouble. %%% Onzuukize, ai Mukama, olw'erinnya lyo: Mu butuukirivu bwo oggyemu emmeeme yange mu nnaku. 19PSA143.012 And of thy mercy cut off mine enemies, and destroy all them that afflict my soul: for I am thy servant. %%% Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange, Omalewo bonna ababonyaabonya emmeeme yange; Kubanga ndi muddu wo. 19PSA144.001 Blessed be the LORD my strength, which teacheth my hands to war, and my fingers to fight: %%% Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange, Ayigiriza emikono gyange entalo, n'engalo zange okulwana. 19PSA144.002 My goodness, and my fortress; my high tower, and my deliverer; my shield, and he in whom I trust; who subdueth my people under me. %%% Ekisa kyange ekirungi era ekigo kyange, Ennyumba yange empanvu, era omulokozi wange; Engabo yange, era oyo gwe nneesiga, Ajeemulula abantu bange be ntwala. 19PSA144.003 LORD, what is man, that thou takest knowledge of him! or the son of man, that thou makest account of him! %%% Mukama, omuntu kiki, ggwe okumumanya? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako? 19PSA144.004 Man is like to vanity: his days are as a shadow that passeth away. %%% Omuntu aliŋŋanga omukka: Ennaku ze ziriŋŋanga ekisiikirize ekiggwaawo. 19PSA144.005 Bow thy heavens, O LORD, and come down: touch the mountains, and they shall smoke. %%% Okutamye eggulu lyo, ai Mukama, okke: Okwate ku nsozi, zinaanyooka. 19PSA144.006 Cast forth lightning, and scatter them: shoot out thine arrows, and destroy them. %%% Okasuke enjota, obasaasaanye; Olase obusaale bwo, obateganye. 19PSA144.007 Send thine hand from above; rid me, and deliver me out of great waters, from the hand of strange children; %%% Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu; Omponye, onziye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannaggwanga; 19PSA144.008 Whose mouth speaketh vanity, and their right hand is a right hand of falsehood. %%% Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba. 19PSA144.009 I will sing a new song unto thee, O God: upon a psaltery and an instrument of ten strings will I sing praises unto thee. %%% Naakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, ai Katonda: N'ennanga erina enkoba ekkumi naayimbanga okukutendereza. 19PSA144.010 It is he that giveth salvation unto kings: who delivereth David his servant from the hurtful sword. %%% Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi: Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma. 19PSA144.011 Rid me, and deliver me from the hand of strange children, whose mouth speaketh vanity, and their right hand is a right hand of falsehood: %%% Omponye, onziye mu mukono gwa bannaggwanga, Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba. 19PSA144.012 That our sons may be as plants grown up in their youth; that our daughters may be as corner stones, polished after the similitude of a palace: %%% Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka; N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri; 19PSA144.013 That our garners may be full, affording all manner of store: that our sheep may bring forth thousands and ten thousands in our streets: %%% Amawanika gaffe bwe galijjula, nga galina ebintu eby'engeri zonna; N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe; 19PSA144.014 That our oxen may be strong to labour; that there be no breaking in, nor going out; that there be no complaining in our streets. %%% Ente zaffe bwe ziriba n'emigugu eminene; Nga tewali kuwagula, newakubadde okufuluma, So nga tewali kuyoogaana mu nguudo zaffe; 19PSA144.015 Happy is that people, that is in such a case: yea, happy is that people, whose God is the LORD. %%% Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo: Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama. 19PSA145.001 I will extol thee, my God, O king; and I will bless thy name for ever and ever. %%% Naakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka; Era neebazanga erinnya lyo emirembe n'emirembe. 19PSA145.002 Every day will I bless thee; and I will praise thy name for ever and ever. %%% Buli lunaku naakwebazanga; Era naatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe. 19PSA145.003 Great is the LORD, and greatly to be praised; and his greatness is unsearchable. %%% Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo N'obukulu bwe tebunoonyezeka. 19PSA145.004 One generation shall praise thy works to another, and shall declare thy mighty acts. %%% Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe, Era ginaatenderanga ebikolwa byo eby'amaanyi. 19PSA145.005 I will speak of the glorious honour of thy majesty, and of thy wondrous works. %%% Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo, Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo, kwe nnaalowoozanga. 19PSA145.006 And men shall speak of the might of thy terrible acts: and I will declare thy greatness. %%% Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa nga bya maanyi; Nange naategeezanga obukulu bwo. 19PSA145.007 They shall abundantly utter the memory of thy great goodness, and shall sing of thy righteousness. %%% Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo. 19PSA145.008 The LORD is gracious, and full of compassion; slow to anger, and of great mercy. %%% Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi. 19PSA145.009 The LORD is good to all: and his tender mercies are over all his works. %%% Mukama mulungi eri bonna; N'okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna. 19PSA145.010 All thy works shall praise thee, O LORD; and thy saints shall bless thee. %%% Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama; N'abatukuvu bo banaakweyanzanga. 19PSA145.011 They shall speak of the glory of thy kingdom, and talk of thy power; %%% Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo, Banaanyumyanga ku buyinza bwo; 19PSA145.012 To make known to the sons of men his mighty acts, and the glorious majesty of his kingdom. %%% Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi, N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe. 19PSA145.013 Thy kingdom is an everlasting kingdom, and thy dominion endureth throughout all generations. %%% Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna. 19PSA145.014 The LORD upholdeth all that fall, and raiseth up all those that be bowed down. %%% Mukama awanirira abagwa bonna, Era ayimiriza abakutama bonna. 19PSA145.015 The eyes of all wait upon thee; and thou givest them their meat in due season. %%% Amaaso g'ebintu byonna gakulindirira; Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo. 19PSA145.016 Thou openest thine hand, and satisfiest the desire of every living thing. %%% Oyanjuluza engalo zo, N’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala. 19PSA145.017 The LORD is righteous in all his ways, and holy in all his works. %%% Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna, Era wa kisa mu mirimu gye gyonna. 19PSA145.018 The LORD is nigh unto all them that call upon him, to all that call upon him in truth. %%% Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, Bonna abamukaabira n'amazima. 19PSA145.019 He will fulfil the desire of them that fear him: he also will hear their cry, and will save them. %%% Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; Era anaawuliranga okukaaba kwabwe anaabalokolanga. 19PSA145.020 The LORD preserveth all them that love him: but all the wicked will he destroy. %%% Mukama akuuma abo bonna abamwagala; Naye ababi bonna alibazikiriza. 19PSA145.021 My mouth shall speak the praise of the LORD: and let all flesh bless his holy name for ever and ever. %%% Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe. 19PSA146.001 Praise ye the LORD. Praise the LORD, O my soul. %%% Mumutendereze Mukama. Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange. 19PSA146.002 While I live will I praise the LORD: I will sing praises unto my God while I have any being. %%% Nga nkyali mulamu, naatenderezanga Mukama: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo. 19PSA146.003 Put not your trust in princes, nor in the son of man, in whom there is no help. %%% Temwesiganga balangira, Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna. 19PSA146.004 His breath goeth forth, he returneth to his earth; in that very day his thoughts perish. %%% Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula. 19PSA146.005 Happy is he that hath the God of Jacob for his help, whose hope is in the LORD his God: %%% Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we, Asuubira Mukama Katonda we: 19PSA146.006 Which made heaven, and earth, the sea, and all that therein is: which keepeth truth for ever: %%% Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna; Akwata amazima ennaku zonna: 19PSA146.007 Which executeth judgment for the oppressed: which giveth food to the hungry. The LORD looseth the prisoners: %%% Abatuukiririza omusango abajoogebwa; Awa emmere abalumwa enjala; Mukama asumulula abasibe; 19PSA146.008 The LORD openeth the eyes of the blind: the LORD raiseth them that are bowed down: the LORD loveth the righteous: %%% Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama ayimiriza abakutama; Mukama ayagala abatuukirivu; 19PSA146.009 The LORD preserveth the strangers; he relieveth the fatherless and widow: but the way of the wicked he turneth upside down. %%% Mukama akuuma bannaggwanga; Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu; Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala. 19PSA146.010 The LORD shall reign for ever, even thy God, O Zion, unto all generations. Praise ye the LORD. %%% Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama. 19PSA147.001 Praise ye the LORD: for it is good to sing praises unto our God; for it is pleasant; and praise is comely. %%% Mumutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma. 19PSA147.002 The LORD doth build up Jerusalem: he gathereth together the outcasts of Israel. %%% Mukama azimbira ddala Yerusaalemi; Akuŋŋaanya wamu abagobebwa ab'omu Isiraeri. 19PSA147.003 He healeth the broken in heart, and bindeth up their wounds. %%% Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe. 19PSA147.004 He telleth the number of the stars; he calleth them all by their names. %%% Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo. 19PSA147.005 Great is our Lord, and of great power: his understanding is infinite. %%% Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka. 19PSA147.006 The LORD lifteth up the meek: he casteth the wicked down to the ground. %%% Mukama awanirira abawombeefu: Asindika wansi ababi. 19PSA147.007 Sing unto the LORD with thanksgiving; sing praise upon the harp unto our God: %%% Mumuyimbire Mukama n'okwebaza; Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe; 19PSA147.008 Who covereth the heaven with clouds, who prepareth rain for the earth, who maketh grass to grow upon the mountains. %%% Abikka ku ggulu n'ebire, Ateekerateekera ensi enkuba, Amereza omuddo ku nsozi. 19PSA147.009 He giveth to the beast his food, and to the young ravens which cry. %%% Awa ensolo emmere yaazo, Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba. 19PSA147.010 He delighteth not in the strength of the horse: he taketh not pleasure in the legs of a man. %%% Tasanyukira maanyi ga mbalaasi: Teyeesiimira amagulu g'omuntu. 19PSA147.011 The LORD taketh pleasure in them that fear him, in those that hope in his mercy. %%% Mukama yeesiimira abo abamutya, Abo abasuubira okusaasira kwe. 19PSA147.012 Praise the LORD, O Jerusalem; praise thy God, O Zion. %%% Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi; Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni. 19PSA147.013 For he hath strengthened the bars of thy gates; he hath blessed thy children within thee. %%% Kubanga anywezezza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo. 19PSA147.014 He maketh peace in thy borders, and filleth thee with the finest of the wheat. %%% Aleeta emirembe mu nsalo zo; Akujjuza obugimu obw'eŋŋaano. 19PSA147.015 He sendeth forth his commandment upon earth: his word runneth very swiftly. %%% Aweereza ekiragiro kye ku nsi; Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi. 19PSA147.016 He giveth snow like wool: he scattereth the hoarfrost like ashes. %%% Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Amansira omusulo ogukutte empewo ng'evvu. 19PSA147.017 He casteth forth his ice like morsels: who can stand before his cold? %%% Aweereza amazzi ge agakutte ng'obukunkumuka: Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze? 19PSA147.018 He sendeth out his word, and melteth them: he causeth his wind to blow, and the waters flow. %%% Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa: Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta. 19PSA147.019 He sheweth his word unto Jacob, his statutes and his judgments unto Israel. %%% Alaga Yakobo ekigambo kye, Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri. 19PSA147.020 He hath not dealt so with any nation: and as for his judgments, they have not known them. Praise ye the LORD. %%% Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna: N'emisango gye tebagimanyanga. Mumutendereze Mukama. 19PSA148.001 Praise ye the LORD. Praise ye the LORD from the heavens: praise him in the heights. %%% Mumutendereze Mukama Mumutendereze Mukama, mmwe abayima mu ggulu: Mumutendereze mu bifo ebya waggulu. 19PSA148.002 Praise ye him, all his angels: praise ye him, all his hosts. %%% Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna: Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna. 19PSA148.003 Praise ye him, sun and moon: praise him, all ye stars of light. %%% Mumutendereze, mmwe enjuba n'omwezi: Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka. 19PSA148.004 Praise him, ye heavens of heavens, and ye waters that be above the heavens. %%% Mumutendereze, mmwe eggulu ly'eggulu, Nammwe amazzi agali waggulu w'eggulu. 19PSA148.005 Let them praise the name of the LORD: for he commanded, and they were created. %%% Bitendereze erinnya lya Mukama: Kubanga yalagira, ne bitondebwa. 19PSA148.006 He hath also stablished them for ever and ever: he hath made a decree which shall not pass. %%% Era yabinyweza okutuusa emirembe n'emirembe: Yateeka etteeka eritaridiba. 19PSA148.007 Praise the LORD from the earth, ye dragons, and all deeps: %%% Mumutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi, Mmwe balukwata, n'ebifo byonna eby'obuziba: 19PSA148.008 Fire, and hail; snow, and vapours; stormy wind fulfilling his word: %%% Omuliro n'omuzira, serugi n'omukka: Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye: 19PSA148.009 Mountains, and all hills; fruitful trees, and all cedars: %%% Ensozi n'obusozi bwonna; Emiti egibala n'emivule gyonna: 19PSA148.010 Beasts, and all cattle; creeping things, and flying fowl: %%% Ensolo n'ente zonna; Ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka: 19PSA148.011 Kings of the earth, and all people; princes, and all judges of the earth: %%% Bakabaka b'ensi n'amawanga gonna; Abalangira n'abalamuzi bonna ab'ensi: 19PSA148.012 Both young men, and maidens; old men, and children: %%% Abavubuka n'abawala; Abakadde n'abato: 19PSA148.013 Let them praise the name of the LORD: for his name alone is excellent; his glory is above the earth and heaven. %%% Batendereze erinnya lya Mukama; Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa: Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu. 19PSA148.014 He also exalteth the horn of his people, the praise of all his saints; even of the children of Israel, a people near unto him. Praise ye the LORD. %%% Era agulumizizza ejjembe ery'abantu be, Ettendo eryabatukuvu be bonna; Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi: Mumutendereze Mukama. 19PSA149.001 Praise ye the LORD. Sing unto the LORD a new song, and his praise in the congregation of saints. %%% Mumutendereze Mukama. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, N'ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu: 19PSA149.002 Let Israel rejoice in him that made him: let the children of Zion be joyful in their King. %%% Isiraeri asanyukire oyo eyamukola: Abaana ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe. 19PSA149.003 Let them praise his name in the dance: let them sing praises unto him with the timbrel and harp. %%% Batendereze erinnya lye nga bazina: Bayimbe okumutendereza n'ekitaasa n'ennanga. 19PSA149.004 For the LORD taketh pleasure in his people: he will beautify the meek with salvation. %%% Kubanga Mukama asanyukira abantu be: Aliwonya abawombeefu n'obulokozi. 19PSA149.005 Let the saints be joyful in glory: let them sing aloud upon their beds. %%% Abatukuvu bajagulize ekitiibwa: Bayimbirenga olw'essanyu ku bitanda byabwe. 19PSA149.006 Let the high praises of God be in their mouth, and a two-edged sword in their hand; %%% Ettendo eggulumivu lya Katonda libenga mu bulago bwabwe, N'ekitala eky'obwogi obubiri mu ngalo zaabwe; 19PSA149.007 To execute vengeance upon the heathen, and punishments upon the people; %%% Okuwalana eggwanga ku mawanga, N'okubonyaabonya abantu; 19PSA149.008 To bind their kings with chains, and their nobles with fetters of iron; %%% Okusiba bakabaka baabwe n'enjegere, N'abakungu baabwe n'ebisiba eby'ebyuma; 19PSA149.009 To execute upon them the judgment written: this honour have all his saints. Praise ye the LORD. %%% Okubatuukirizaako omusango ogwawandiikibwa: Abatukuvu be bonna balina ekitiibwa ekyo. Mumutendereze Mukama. 19PSA150.001 Praise ye the LORD. Praise God in his sanctuary: praise him in the firmament of his power. %%% Mumutendereze Mukama. Mumutendereze Katonda mu watukuvu we: Mumutendereze mu bbanga ery'amaanyi ge. 19PSA150.002 Praise him for his mighty acts: praise him according to his excellent greatness. %%% Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi: Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli. 19PSA150.003 Praise him with the sound of the trumpet: praise him with the psaltery and harp. %%% Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere: Mumutendereze n'amadinda n'ennanga. 19PSA150.004 Praise him with the timbrel and dance: praise him with stringed instruments and organs. %%% Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina: Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere: 19PSA150.005 Praise him upon the loud cymbals: praise him upon the high sounding cymbals. %%% Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo: Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono. 19PSA150.006 Let every thing that hath breath praise the LORD. Praise ye the LORD. %%% Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama. 20PRO001.001 The proverbs of Solomon the son of David, king of Israel; %%% Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri: 20PRO001.002 To know wisdom and instruction; to perceive the words of understanding; %%% Okumanyanga amagezi n'okuyigirizibwanga; Okwawulanga ebigambo eby'okutegeera; 20PRO001.003 To receive the instruction of wisdom, justice, and judgment, and equity; %%% Okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby'amagezi, Obutuukirivu n'okusalanga emisango n'okugobereranga ensonga; 20PRO001.004 To give subtilty to the simple, to the young man knowledge and discretion. %%% Okuwanga abatalina magezi obukabakaba, Omulenzi abeerenga n'okumanya n'okuteesa: 20PRO001.005 A wise man will hear, and will increase learning; and a man of understanding shall attain unto wise counsels: %%% Ow'amagezi awulire yeeyongerenga okuba n'okuyiga; Era omusajja alina okutegeera afune okuteesanga okutuufu. 20PRO001.006 To understand a proverb, and the interpretation; the words of the wise, and their dark sayings. %%% Okutegeeranga olugero n'ekifaananyi; Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe. 20PRO001.007 The fear of the LORD is the beginning of knowledge: but fools despise wisdom and instruction. %%% Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera: Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga. 20PRO001.008 My son, hear the instruction of thy father, and forsake not the law of thy mother: %%% Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, So tova mu tteeka lya nnyoko: 20PRO001.009 For they shall be an ornament of grace unto thy head, and chains about thy neck. %%% Kubanga binaabanga ngule ya kisa ku mutwe gwo, N'emikuufu egyetoolodde obulago bwo. 20PRO001.010 My son, if sinners entice thee, consent thou not. %%% Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasenda, Tokkirizanga. 20PRO001.011 If they say, Come with us, let us lay wait for blood, let us lurk privily for the innocent without cause: %%% Bwe boogera nti Jjangu tugende fenna, Tuteege omusaayi, Tugwire mu kyama ataliiko musango awatali nsonga; 20PRO001.012 Let us swallow them up alive as the grave; and whole, as those that go down into the pit: %%% Tubamire nga bakyali balamu ng'amagombe, Era nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya; 20PRO001.013 We shall find all precious substance, we shall fill our houses with spoil: %%% Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo omungi. Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago; 20PRO001.014 Cast in thy lot among us; let us all have one purse: %%% Oneekubira akalulu wamu naffe; Fenna tunaabanga n'ensawo emu: 20PRO001.015 My son, walk not thou in the way with them; refrain thy foot from their path: %%% Mwana wange, totambuliranga mu kkubo wamu nabo: Ziyizanga ekigere kyo okuyitanga mu lugendo lwabwe: 20PRO001.016 For their feet run to evil, and make haste to shed blood. %%% Kubanga ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, Era byanguwa okuyiwa omusaayi. 20PRO001.017 Surely in vain the net is spread in the sight of any bird. %%% Kubanga bategera bwereere ekitimba, Ennyonyi yonna ng'ekiraba: 20PRO001.018 And they lay wait for their own blood; they lurk privily for their own lives. %%% Era abo bateega omusaayi gwabwe bo, Bagwira mu kyama obulamu bwabwe bo. 20PRO001.019 So are the ways of every one that is greedy of gain; which taketh away the life of the owners thereof. %%% Bwe gatyo bwe gabeera amakubo aga buli muntu eyeegomba amagoba; Gaggyawo obulamu bwa bannyini go. 20PRO001.020 Wisdom crieth without; she uttereth her voice in the streets: %%% Amagezi googerera waggulu mu luguudo; Galeeta eddoboozi lyago mu bifo ebigazi; 20PRO001.021 She crieth in the chief place of concourse, in the openings of the gates: in the city she uttereth her words, saying, %%% Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu miryango, Mu kibuga mwe galeetera ebigambo byago: 20PRO001.022 How long, ye simple ones, will ye love simplicity? and the scorners delight in their scorning, and fools hate knowledge? %%% Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya? 20PRO001.023 Turn you at my reproof: behold, I will pour out my spirit unto you, I will make known my words unto you. %%% Mukyuke olw'okunenya kwange: Laba, naafukanga omwoyo gwange gye muli, Naabamanyisanga ebigambo byange. 20PRO001.024 Because I have called, and ye refused; I have stretched out my hand, and no man regarded; %%% Kubanga mpise, mmwe ne mugaana; Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo; 20PRO001.025 But ye have set at nought all my counsel, and would none of my reproof: %%% Naye mujjuludde okuteesa kwange kwonna, So temwagadde kunenya kwange n'akatono: 20PRO001.026 I also will laugh at your calamity; I will mock when your fear cometh; %%% Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku; Ndikudaala entiisa yammwe bw'erituuka; 20PRO001.027 When your fear cometh as desolation, and your destruction cometh as a whirlwind; when distress and anguish cometh upon you. %%% Entiisa yammwe bw'erituuka ng'omuyaga, N'ennaku ze muliraba bwe zirijja ng'embuyaga ez'akazimu; Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira. 20PRO001.028 Then shall they call upon me, but I will not answer; they shall seek me early, but they shall not find me: %%% Kale bwe balinkaabira, naye siriddamu; Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba: 20PRO001.029 For that they hated knowledge, and did not choose the fear of the LORD: %%% Kubanga baakyawanga okumanya, So tebeerobozanga kutya Mukama: 20PRO001.030 They would none of my counsel: they despised all my reproof. %%% Tebaayagalanga kuteesa kwange n'akatono; Baanyoomanga okunenya kwange kwonna: 20PRO001.031 Therefore shall they eat of the fruit of their own way, and be filled with their own devices. %%% Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo, Ne bakkuta enkwe zaabwe bo. 20PRO001.032 For the turning away of the simple shall slay them, and the prosperity of fools shall destroy them. %%% Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta, N'okulaba omukisa okw'abasirusiru kulibazikiriza. 20PRO001.033 But whoso hearkeneth unto me shall dwell safely, and shall be quiet from fear of evil. %%% Naye buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe, Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi. 20PRO002.001 My son, if thou wilt receive my words, and hide my commandments with thee; %%% Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo; 20PRO002.002 So that thou incline thine ear unto wisdom, and apply thine heart to understanding; %%% N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera; 20PRO002.003 Yea, if thou criest after knowledge, and liftest up thy voice for understanding; %%% Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya, N'oliriranga okutegeera. 20PRO002.004 If thou seekest her as silver, and searchest for her as for hid treasures; %%% Bw'onooganoonyanga nga ffeeza, N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa; 20PRO002.005 Then shalt thou understand the fear of the LORD, and find the knowledge of God. %%% Kale lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda. 20PRO002.006 For the LORD giveth wisdom: out of his mouth cometh knowledge and understanding. %%% Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera: 20PRO002.007 He layeth up sound wisdom for the righteous: he is a buckler to them that walk uprightly. %%% Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona; 20PRO002.008 He keepeth the paths of judgment, and preserveth the way of his saints. %%% Alyoke akuume amakubo ag'omusango, Era awonye okutambula kw'abatukuvu be. 20PRO002.009 Then shalt thou understand righteousness, and judgment, and equity; yea, every good path. %%% Kale lw'olitegeera obutuukirivu n'omusango, N'eby'ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi. 20PRO002.010 When wisdom entereth into thine heart, and knowledge is pleasant unto thy soul; %%% Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo; 20PRO002.011 Discretion shall preserve thee, understanding shall keep thee: %%% Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga: 20PRO002.012 To deliver thee from the way of the evil man, from the man that speaketh froward things; %%% Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi, Eri abasajja aboogera eby'ekyejo; 20PRO002.013 Who leave the paths of uprightness, to walk in the ways of darkness; %%% Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza; 20PRO002.014 Who rejoice to do evil, and delight in the frowardness of the wicked; %%% Abasanyuka okukola obubi, N'ekyejo eky'omubi kye kibawoomera; 20PRO002.015 Whose ways are crooked, and they froward in their paths: %%% Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'okugenda kwabwe kwenyoolanyoola: 20PRO002.016 To deliver thee from the strange woman, even from the stranger which flattereth with her words; %%% Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye; 20PRO002.017 Which forsaketh the guide of her youth, and forgetteth the covenant of her God. %%% Aleka omukwano ogw'omu buto bwe, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we: 20PRO002.018 For her house inclineth unto death, and her paths unto the dead. %%% Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa, N'amakubo ge eri abafu: 20PRO002.019 None that go unto her return again, neither take they hold of the paths of life. %%% Tewali abagenda gy'ali abadda nate, So tebatuuka mu makubo ag'obulamu: 20PRO002.020 That thou mayest walk in the way of good men, and keep the paths of the righteous. %%% Olyoke otambulirenga mu kkubo ery'abasajja abalungi, N'okwata empenda ez'abatuukirivu. 20PRO002.021 For the upright shall dwell in the land, and the perfect shall remain in it. %%% Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo. 20PRO002.022 But the wicked shall be cut off from the earth, and the transgressors shall be rooted out of it. %%% Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala. 20PRO003.001 My son, forget not my law; but let thine heart keep my commandments: %%% Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange; 20PRO003.002 For length of days, and long life, and peace, shall they add to thee. %%% Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako. 20PRO003.003 Let not mercy and truth forsake thee: bind them about thy neck; write them upon the table of thine heart: %%% Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo: 20PRO003.004 So shalt thou find favour and good understanding in the sight of God and man. %%% Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu. 20PRO003.005 Trust in the LORD with all thine heart; and lean not unto thine own understanding. %%% Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: 20PRO003.006 In all thy ways acknowledge him, and he shall direct thy paths. %%% Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. 20PRO003.007 Be not wise in thine own eyes: fear the LORD, and depart from evil. %%% Tobanga na magezi mu maaso go ggwe; Tyanga Mukama ove mu bubi: 20PRO003.008 It shall be health to thy navel, and marrow to thy bones. %%% Ekyo kye kinaabanga obulamu eri ekkundi lyo, N'obusomyo eri amagumba go. 20PRO003.009 Honour the LORD with thy substance, and with the firstfruits of all thine increase: %%% Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna: 20PRO003.010 So shall thy barns be filled with plenty, and thy presses shall burst out with new wine. %%% Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu. 20PRO003.011 My son, despise not the chastening of the LORD; neither be weary of his correction: %%% Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama; So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya: 20PRO003.012 For whom the LORD loveth he correcteth; even as a father the son in whom he delighteth. %%% Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira. 20PRO003.013 Happy is the man that findeth wisdom, and the man that getteth understanding. %%% Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera. 20PRO003.014 For the merchandise of it is better than the merchandise of silver, and the gain thereof than fine gold. %%% Kubanga obuguzi bwago businga obuguzi obwa ffeeza, N'amagoba gaago gakira zaabu ennungi. 20PRO003.015 She is more precious than rubies: and all the things thou canst desire are not to be compared unto her. %%% Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu: So tewali kintu ky'oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago. 20PRO003.016 Length of days is in her right hand; and in her left hand riches and honour. %%% Okuwangaala kuli mu mukono gwago ogwa ddyo; Mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n'ekitiibwa. 20PRO003.017 Her ways are ways of pleasantness, and all her paths are peace. %%% Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe. 20PRO003.018 She is a tree of life to them that lay hold upon her: and happy is every one that retaineth her. %%% Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago. 20PRO003.019 The LORD by wisdom hath founded the earth; by understanding hath he established the heavens. %%% Mukama yassaawo emisingi gy'ensi n'amagezi; Yanyweza eggulu n'okutegeera. 20PRO003.020 By his knowledge the depths are broken up, and the clouds drop down the dew. %%% Ennyanja yayabika n'okumanya kwe, Eggulu ne litonnya omusulo. 20PRO003.021 My son, let not them depart from thine eyes: keep sound wisdom and discretion: %%% Mwana wange, ebyo tebivanga ku maaso go; Kwatanga amagezi amatuufu n'okuteesa; 20PRO003.022 So shall they be life unto thy soul, and grace to thy neck. %%% Bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo, N'obuyonjo eri obulago bwo. 20PRO003.023 Then shalt thou walk in thy way safely, and thy foot shall not stumble. %%% Awo lw'olitambulira mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala. 20PRO003.024 When thou liest down, thou shalt not be afraid: yea, thou shalt lie down, and thy sleep shall be sweet. %%% Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga. 20PRO003.025 Be not afraid of sudden fear, neither of the desolation of the wicked, when it cometh. %%% Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Newakubadde okuzikiriza okw'ababi bwe kujjanga: 20PRO003.026 For the LORD shall be thy confidence, and shall keep thy foot from being taken. %%% Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa 20PRO003.027 Withhold not good from them to whom it is due, when it is in the power of thine hand to do it. %%% Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola. 20PRO003.028 Say not unto thy neighbour, Go, and come again, and to morrow I will give; when thou hast it by thee. %%% Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo, Enkya ndikuwa; Bwe kiri naawe. 20PRO003.029 Devise not evil against thy neighbour, seeing he dwelleth securely by thee. %%% Tosaliranga munno bubi, Kubanga abeera gy'oli mirembe 20PRO003.030 Strive not with a man without cause, if he have done thee no harm. %%% Toyombanga na muntu awatali nsonga, Oba nga taliiko bubi bw'akukoze. 20PRO003.031 Envy thou not the oppressor, and choose none of his ways. %%% Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, So teweerobozanga makubo ge gonna. 20PRO003.032 For the froward is abomination to the LORD: but his secret is with the righteous. %%% Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye ekyama kye kiri n'abagolokofu. 20PRO003.033 The curse of the LORD is in the house of the wicked: but he blesseth the habitation of the just. %%% Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera. 20PRO003.034 Surely he scorneth the scorners: but he giveth grace unto the lowly. %%% Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaza ekisa. 20PRO003.035 The wise shall inherit glory: but shame shall be the promotion of fools. %%% Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye ensonyi ze ziriba okukuzibwa okw'abasirusiru. 20PRO004.001 Hear, ye children, the instruction of a father, and attend to know understanding. %%% Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Mutegenga amatu okumanya okutegeera: 20PRO004.002 For I give you good doctrine, forsake ye not my law. %%% Kubanga mbawa okuyiga okulungi; Temuvanga mu tteka lyange. 20PRO004.003 For I was my father's son, tender and only beloved in the sight of my mother. %%% Kubanga nali mwana eri kitange, Omugonvu era eyayagalibwanga nzekka mu maaso ga mmange. 20PRO004.004 He taught me also, and said unto me, Let thine heart retain my words: keep my commandments, and live. %%% Era yanjigirizanga n'aŋŋamba nti Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange; Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu: 20PRO004.005 Get wisdom, get understanding: forget it not; neither decline from the words of my mouth. %%% Funa amagezi, funa okutegeera; Togeerabiranga so tovanga mu bigambo eby'omu kamwa kange: 20PRO004.006 Forsake her not, and she shall preserve thee: love her, and she shall keep thee. %%% Togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulindanga. 20PRO004.007 Wisdom is the principal thing; therefore get wisdom: and with all thy getting get understanding. %%% Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi: Weewaawo funanga okutegeera n'ebyo byonna bye wafunanga. 20PRO004.008 Exalt her, and she shall promote thee: she shall bring thee to honour, when thou dost embrace her. %%% Gagulumizenga nago galikukuza: Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga. 20PRO004.009 She shall give to thine head an ornament of grace: a crown of glory shall she deliver to thee. %%% Galiwa omutwe gwo engule ey'obuyonjo: Galikugabira enkuufiira ey'obulungi. 20PRO004.010 Hear, O my son, and receive my sayings; and the years of thy life shall be many. %%% Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; N'emyaka egy'obulamu bwo giriba mingi. 20PRO004.011 I have taught thee in the way of wisdom; I have led thee in right paths. %%% Naakuyigiriza ekkubo ery'amagezi; Naakuluŋŋamya mu makubo ag'obugolokofu. 20PRO004.012 When thou goest, thy steps shall not be straitened; and when thou runnest, thou shalt not stumble. %%% Bw'onootambulanga ebigere byo tebiifundikirwenga; Era bw'onoddukanga teweesittalenga. 20PRO004.013 Take fast hold of instruction; let her not go: keep her; for she is thy life. %%% Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo. 20PRO004.014 Enter not into the path of the wicked, and go not in the way of evil men. %%% Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi. 20PRO004.015 Avoid it, pass not by it, turn from it, and pass away. %%% Olwesambanga, toluyitangako; Okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso. 20PRO004.016 For they sleep not, except they have done mischief; and their sleep is taken away, unless they cause some to fall. %%% Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi; N'otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza. 20PRO004.017 For they eat the bread of wickedness, and drink the wine of violence. %%% Kubanga balya emmere ey'obubi, Ne banywa omwenge ogw'okugira ekyejo. 20PRO004.018 But the path of the just is as the shining light, that shineth more and more unto the perfect day. %%% Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira. 20PRO004.019 The way of the wicked is as darkness: they know not at what they stumble. %%% Ekkubo ery'ababi liriŋŋanga ekizikiza: Tebamanyi ekibeesittaza. 20PRO004.020 My son, attend to my words; incline thine ear unto my sayings. %%% Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; Teganga okutu eri okwogera kwange. 20PRO004.021 Let them not depart from thine eyes; keep them in the midst of thine heart. %%% Tebivanga ku maaso go; Bikuumirenga wakati mu mutima gwo. 20PRO004.022 For they are life unto those that find them, and health to all their flesh. %%% Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, Era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna. 20PRO004.023 Keep thy heart with all diligence; for out of it are the issues of life. %%% Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; Kubanga omwo mwe muva ensulo ez'obulamu. 20PRO004.024 Put away from thee a froward mouth, and perverse lips put far from thee. %%% Weggyengako akamwa akabambaavu, N'emimwa emikyamu ogyewalanga nnyo. 20PRO004.025 Let thine eyes look right on, and let thine eyelids look straight before thee. %%% Amaaso go galuŋŋamirenga ddala, N'ebikowe byo bitunuulirenga ddala emberi yo. 20PRO004.026 Ponder the path of thy feet, and let all thy ways be established. %%% Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga. 20PRO004.027 Turn not to the right hand nor to the left: remove thy foot from evil. %%% Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi. 20PRO005.001 My son, attend unto my wisdom, and bow thine ear to my understanding: %%% Mwana wange, ssangayo omwoyo eri amagezi gange; Teganga okutu eri okutegeera kwange: 20PRO005.002 That thou mayest regard discretion, and that thy lips may keep knowledge. %%% Olyoke okuumenga okuteesa, N'emimwa gyo gikwatenga okumanya. 20PRO005.003 For the lips of a strange woman drop as an honeycomb, and her mouth is smoother than oil: %%% Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu: 20PRO005.004 But her end is bitter as wormwood, sharp as a two-edged sword. %%% Naye enkomerero ey'oluvannyuma ekaawa ng'omususa, Esala ng'ekitala eky'obwogi obubiri. 20PRO005.005 Her feet go down to death; her steps take hold on hell. %%% Ebigere bye bikka mu kufa; Ebisinde bye bikwata amagombe; 20PRO005.006 Lest thou shouldest ponder the path of life, her ways are moveable, that thou canst not know them. %%% N'okulaba talaba kkubo ttereevu ery'obulamu: Amakubo ge gasagaasagana, so takimanyi. 20PRO005.007 Hear me now therefore, O ye children, and depart not from the words of my mouth. %%% Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo eby'omu kamwa kange. 20PRO005.008 Remove thy way far from her, and come not nigh the door of her house: %%% Ekkubo lyo limwesambire ddala, So tosembereranga luggi lwa nnyumba ye: 20PRO005.009 Lest thou give thine honour unto others, and thy years unto the cruel: %%% Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo, N'emyaka gyo eri omukambwe. 20PRO005.010 Lest strangers be filled with thy wealth; and thy labours be in the house of a stranger; %%% Abagenyi balemenga okukkuta amaanyi go; N'emirimu gyo giremenga okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga; 20PRO005.011 And thou mourn at the last, when thy flesh and thy body are consumed, %%% Naawe n'onakuwala enkomerero yo ng'etuuse Ennyama yo n'omubiri gwo bwe birimalibwawo, 20PRO005.012 And say, How have I hated instruction, and my heart despised reproof; %%% N'oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa, Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa; 20PRO005.013 And have not obeyed the voice of my teachers, nor inclined mine ear to them that instructed me! %%% So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange, So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga! 20PRO005.014 I was almost in all evil in the midst of the congregation and assembly. %%% Nabulako katono okuba mu bubi bwonna Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina. 20PRO005.015 Drink waters out of thine own cistern, and running waters out of thine own well. %%% Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N'amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe. 20PRO005.016 Let thy fountains be dispersed abroad, and rivers of waters in the streets. %%% Ensulo zo zandisaasaanidde ddala, Emigga egy'amazzi ne giba mu nguudo? 20PRO005.017 Let them be only thine own, and not strangers' with thee. %%% Gabeereranga ddala gago wekka, So si ga bagenyi wamu naawe. 20PRO005.018 Let thy fountain be blessed: and rejoice with the wife of thy youth. %%% Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo. 20PRO005.019 Let her be as the loving hind and pleasant roe; let her breasts satisfy thee at all times; and be thou ravished always with her love. %%% Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe. 20PRO005.020 And why wilt thou, my son, be ravished with a strange woman, and embrace the bosom of a stranger? %%% Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo? 20PRO005.021 For the ways of man are before the eyes of the LORD, and he pondereth all his goings. %%% Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna. 20PRO005.022 His own iniquities shall take the wicked himself, and he shall be holden with the cords of his sins. %%% Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi, Era alisibibwa n'emigwa egy'okwonoona kwe, 20PRO005.023 He shall die without instruction; and in the greatness of his folly he shall go astray. %%% Alifa olw'okubulwa okuyigirizibwa; Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba. 20PRO006.001 My son, if thou be surety for thy friend, if thou hast stricken thy hand with a stranger, %%% Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'okubira omugenyi mu ngalo, 20PRO006.002 Thou art snared with the words of thy mouth, thou art taken with the words of thy mouth. %%% Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza, Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze. 20PRO006.003 Do this now, my son, and deliver thyself, when thou art come into the hand of thy friend; go, humble thyself, and make sure thy friend. %%% Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze otayirire muliraanwa wo. 20PRO006.004 Give not sleep to thine eyes, nor slumber to thine eyelids. %%% Toganyanga maaso go kwebaka Newakubadde ebikowe byo okubongoota. 20PRO006.005 Deliver thyself as a roe from the hand of the hunter, and as a bird from the hand of the fowler. %%% Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi, Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi. 20PRO006.006 Go to the ant, thou sluggard; consider her ways, and be wise: %%% Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu; Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi: 20PRO006.007 Which having no guide, overseer, or ruler, %%% Eyo terina mwami, Newakubadde omulabirizi newakubadde afuga, 20PRO006.008 Provideth her meat in the summer, and gathereth her food in the harvest. %%% Naye ne yeeterekera ebyayo ebyokulya mu biro eby'okukunguliramu, N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka. 20PRO006.009 How long wilt thou sleep, O sluggard? when wilt thou arise out of thy sleep? %%% Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu? Oligolokoka ddi mu tulo two? 20PRO006.010 Yet a little sleep, a little slumber, a little folding of the hands to sleep: %%% Wakyaliwo okwebaka okutono n'okubongoota okutono, N'okufunya emikono okutono okwebaka: 20PRO006.011 So shall thy poverty come as one that travelleth, and thy want as an armed man. %%% Bwe kityo obwavu bwo bulijja ng'omunyazi, N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa. 20PRO006.012 A naughty person, a wicked man, walketh with a froward mouth. %%% Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja ow'obutali butuukirivu; Atambula ng'alina akamwa akabambaavu; 20PRO006.013 He winketh with his eyes, he speaketh with his feet, he teacheth with his fingers; %%% Atemya amaaso, ayogeza bigere bye, Abagula n'engalo ze; 20PRO006.014 Frowardness is in his heart, he deviseth mischief continually; he soweth discord. %%% Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata; Asiga okukyawagana nga tamanyiridde; 20PRO006.015 Therefore shall his calamity come suddenly; suddenly shall he be broken without remedy. %%% Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde; Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa. 20PRO006.016 These six things doth the LORD hate: yea, seven are an abomination unto him: %%% Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa; Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali: 20PRO006.017 A proud look, a lying tongue, and hands that shed innocent blood, %%% Amaaso ag'amalala, olulimi olulimba, N'engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango; 20PRO006.018 An heart that deviseth wicked imaginations, feet that be swift in running to mischief, %%% Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, Ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima; 20PRO006.019 A false witness that speaketh lies, and he that soweth discord among brethren. %%% Omujulirwa w'obulimba ayogera eby'obulimba, N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda. 20PRO006.020 My son, keep thy father's commandment, and forsake not the law of thy mother: %%% Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga tteeka lya nnyoko: 20PRO006.021 Bind them continually upon thine heart, and tie them about thy neck. %%% Bisibenga ennaku zonna ku mutima gwo, Binywezenga mu bulago bwo. 20PRO006.022 When thou goest, it shall lead thee; when thou sleepest, it shall keep thee; and when thou awakest, it shall talk with thee. %%% Bw'onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw'oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, linaayogeranga naawe. 20PRO006.023 For the commandment is a lamp; and the law is light; and reproofs of instruction are the way of life: %%% Kubanga etteeka ttabaaza; ekiragiro musana; N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu: 20PRO006.024 To keep thee from the evil woman, from the flattery of the tongue of a strange woman. %%% Okukuumanga eri omukazi omubi, Eri okunyumiriza kw'olulimi lw'omugenyi. 20PRO006.025 Lust not after her beauty in thine heart; neither let her take thee with her eyelids. %%% Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo; So n'ebikowe bye biremenga okukukwasa. 20PRO006.026 For by means of a whorish woman a man is brought to a piece of bread: and the adulteress will hunt for the precious life. %%% Kubanga olw'omukazi omwenzi omuntu afuuka mmere bumere: N'omukazi omwenzi ayigga obulamu obw'omuwendo omungi. 20PRO006.027 Can a man take fire in his bosom, and his clothes not be burned? %%% Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, Ebyambalo bye ne bitaggya? 20PRO006.028 Can one go upon hot coals, and his feet not be burned? %%% Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, Ebigere bye ne bitasiriira? 20PRO006.029 So he that goeth in to his neighbour's wife; whosoever toucheth her shall not be innocent. %%% Bw'atyo bw'abeera ayingira eri omukazi wa munne; Buli amukomako talirema kubonerezebwa. 20PRO006.030 Men do not despise a thief, if he steal to satisfy his soul when he is hungry; %%% Abantu tebanyooma mubbi oba ng'abba Okukkusa emmeeme ye ng'alumiddwa enjala: 20PRO006.031 But if he be found, he shall restore sevenfold; he shall give all the substance of his house. %%% Naye bw'anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu; Anaawangayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye. 20PRO006.032 But whoso committeth adultery with a woman lacketh understanding: he that doeth it destroyeth his own soul. %%% Ayenda ku mukazi talina kutegeera: Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo. 20PRO006.033 A wound and dishonour shall he get; and his reproach shall not be wiped away. %%% Alifuna ebiwundu n'okunyoomebwa; N'ekivume kye tekirisangulibwa. 20PRO006.034 For jealousy is the rage of a man: therefore he will not spare in the day of vengeance. %%% Kubanga obuggya kye kiruyi ky'omusajja; So talisaasira ku lunaku olw'okuwalanirako eggwanga. 20PRO006.035 He will not regard any ransom; neither will he rest content, though thou givest many gifts. %%% Talissaayo mwoyo eri ekinunulo kyonna; So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi. 20PRO007.001 My son, keep my words, and lay up my commandments with thee. %%% Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Oterekanga ebiragiro byange ewuwo. 20PRO007.002 Keep my commandments, and live; and my law as the apple of thine eye. %%% Okwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu; N'etteeka lyange ng'emmunye ey'eriiso lyo. 20PRO007.003 Bind them upon thy fingers, write them upon the table of thine heart. %%% Bisibenga ku mukono gwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo. 20PRO007.004 Say unto wisdom, Thou art my sister; and call understanding thy kinswoman: %%% Gambanga amagezi nti Ggwe mwannyinaze; Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe: 20PRO007.005 That they may keep thee from the strange woman, from the stranger which flattereth with her words. %%% Bikukuumenga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye. 20PRO007.006 For at the window of my house I looked through my casement, %%% Kubanga nalingiza mu ddirisa ery'ennyumba yange Mu mulimu omuluke ogw'omu ddirisa; 20PRO007.007 And beheld among the simple ones, I discerned among the youths, a young man void of understanding, %%% Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Omuvubuka atalina kutegeera, 20PRO007.008 Passing through the street near her corner; and he went the way to her house, %%% Ng'ayita mu luguudo kumpi ku mugguukiriro gwe, N'agenda mu kkubo eridda mu nnyumba ye; 20PRO007.009 In the twilight, in the evening, in the black and dark night: %%% Mu kizikiza, obudde nga buwungedde; Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi. 20PRO007.010 And, behold, there met him a woman with the attire of an harlot, and subtil of heart. %%% Kale, laba, ne wamusisinkana omukazi Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya. 20PRO007.011 (She is loud and stubborn; her feet abide not in her house: %%% Muyombi era mukakanyavu; Ebigere bye tebibeera mu nnyumba ye: 20PRO007.012 Now is she without, now in the streets, and lieth in wait at every corner.) %%% Oluusi aba mu nguudo, oluusi mu bifo ebigazi, Era ateegera ku buli mugguukiriro. 20PRO007.013 So she caught him, and kissed him, and with an impudent face said unto him, %%% Awo n'amukwata n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti 20PRO007.014 I have peace offerings with me; this day have I payed my vows. %%% Ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe ziri wange; Leero mmaze okusasula obweyamo bwange. 20PRO007.015 Therefore came I forth to meet thee, diligently to seek thy face, and I have found thee. %%% Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, Okunyiikira okunoonya amaaso go, era nkulabye. 20PRO007.016 I have decked my bed with coverings of tapestry, with carved works, with fine linen of Egypt. %%% Njaze ekitanda kyange n'amagodooli, N'engoye ez'amakuubo eza ppamba w’e Misiri. 20PRO007.017 I have perfumed my bed with myrrh, aloes, and cinnamon. %%% Mpunyisizza bulungi ekiriri kyange N'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa. 20PRO007.018 Come, let us take our fill of love until the morning: let us solace ourselves with loves. %%% Jjangu tukkute okwagala okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala. 20PRO007.019 For the goodman is not at home, he is gone a long journey: %%% Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala: 20PRO007.020 He hath taken a bag of money with him, and will come home at the day appointed. %%% Yagenda ng'atwala ensawo eya ffeeza; Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo. 20PRO007.021 With her much fair speech she caused him to yield, with the flattering of her lips she forced him. %%% Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda n'okwegonza okw'emimwa gye. 20PRO007.022 He goeth after her straightway, as an ox goeth to the slaughter, or as a fool to the correction of the stocks; %%% Amangu ago agenda amugobeberera, Ng'ente bw'egenda okusalibwa, Oba ng'amasamba bwe gagenda okukangavvula omusirusiru; 20PRO007.023 Till a dart strike through his liver; as a bird hasteth to the snare, and knoweth not that it is for his life. %%% Okutuusa akasaale lwe kalifumita ekibumba kye; Ng'ennyonyi bw'eyanguwa okugwa mu kyambika, So tamanyi ng'alifiirwa obulamu bwe. 20PRO007.024 Hearken unto me now therefore, O ye children, and attend to the words of my mouth. %%% Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo eby'omu kamwa kange. 20PRO007.025 Let not thine heart decline to her ways, go not astray in her paths. %%% Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze. 20PRO007.026 For she hath cast down many wounded: yea, many strong men have been slain by her. %%% Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Weewaawo, ababe abattibwa ggye ddene. 20PRO007.027 Her house is the way to hell, going down to the chambers of death. %%% Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe. Nga likka mu bisenge eby'okufa. 20PRO008.001 Doth not wisdom cry? and understanding put forth her voice? %%% Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleeta ddoboozi lyakwo? 20PRO008.002 She standeth in the top of high places, by the way in the places of the paths. %%% Enguudo we zisibuka mu kkubo Mu masaŋŋanzira we gayimirira; 20PRO008.003 She crieth at the gates, at the entry of the city, at the coming in at the doors. %%% Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Abantu we bayingirira awali enzigi googerera waggulu: 20PRO008.004 Unto you, O men, I call; and my voice is to the sons of man. %%% Mmwe abasajja, mbakoowoola; N'eddoboozi lyange liri eri abaana b'abantu. 20PRO008.005 O ye simple, understand wisdom: and, ye fools, be ye of an understanding heart. %%% Mmwe abatalina magezi, mutegeerenga obukabakaba; Nammwe, abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera. 20PRO008.006 Hear; for I will speak of excellent things; and the opening of my lips shall be right things. %%% Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; N'okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby'ensonga. 20PRO008.007 For my mouth shall speak truth; and wickedness is an abomination to my lips. %%% Kubanga akamwa kange kanaayogera eby'amazima; N'obubi bwa muzizo eri emimwa gyange. 20PRO008.008 All the words of my mouth are in righteousness; there is nothing froward or perverse in them. %%% Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kintu ekikyamakyama newakubadde ekyenyodde. 20PRO008.009 They are all plain to him that understandeth, and right to them that find knowledge. %%% Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri abo abalaba okumanya. 20PRO008.010 Receive my instruction, and not silver; and knowledge rather than choice gold. %%% Mukkirize okuyigiriza kwange so si ffeeza; N'okumanya okukira zaabu ennonde. 20PRO008.011 For wisdom is better than rubies; and all the things that may be desired are not to be compared to it. %%% Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu; N'ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago. 20PRO008.012 I wisdom dwell with prudence, and find out knowledge of witty inventions. %%% Nze amagezi nfudde obukabakaba okuba ennyumba yange Era nnoonya okumanya n'okuteesa. 20PRO008.013 The fear of the LORD is to hate evil: pride, and arrogancy, and the evil way, and the froward mouth, do I hate. %%% Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Amalala n'essukuti n'ekkubo ebbi N'akamwa akabambaavu bye nkyawa. 20PRO008.014 Counsel is mine, and sound wisdom: I am understanding; I have strength. %%% Okuteesa kwange n'okumanya okutuufu: Nze ndi kutegeera; nnina amaanyi. 20PRO008.015 By me kings reign, and princes decree justice. %%% Ku bwange bakabaka bafuga, Abalangira ne bateeka eby'obutuukiruvu. 20PRO008.016 By me princes rule, and nobles, even all the judges of the earth. %%% Ku bwange abalangira bafuga, N'abakungu, abalamuzi bonna ab'oku nsi: 20PRO008.017 I love them that love me; and those that seek me early shall find me. %%% Njagala abo abanjagala; N’abo abanyiikira okunnoonya balindaba. 20PRO008.018 Riches and honour are with me; yea, durable riches and righteousness. %%% Obugagga n’ekitiibwa biri nange; Wewaawo, obugagga obw’enkalakkalira n’obutuukirivu. 20PRO008.019 My fruit is better than gold, yea, than fine gold; and my revenue than choice silver. %%% Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, weewaawo, zaabu ennungi; N'amagoba gange gakira ffeeza ennonde. 20PRO008.020 I lead in the way of righteousness, in the midst of the paths of judgment: %%% Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, Wakati mu mpenda ez'okusala emisango: 20PRO008.021 That I may cause those that love me to inherit substance; and I will fill their treasures. %%% Ndyoke mpe abo abanjagala okusikira ebintu, Era njijuze amawanika gaabwe. 20PRO008.022 The LORD possessed me in the beginning of his way, before his works of old. %%% Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera, Okusooka emirimu gye egy'edda. 20PRO008.023 I was set up from everlasting, from the beginning, or ever the earth was. %%% Nateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo. 20PRO008.024 When there were no depths, I was brought forth; when there were no fountains abounding with water. %%% Nga tewannabaawo buziba, nazaalibwa; Ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnabaawo. 20PRO008.025 Before the mountains were settled, before the hills was I brought forth: %%% Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, Nasooka obusozi okuzaalibwa: 20PRO008.026 While as yet he had not made the earth, nor the fields, nor the highest part of the dust of the world. %%% Ye nga tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Newakubadde enfuufu ey'ensi eyasooka. 20PRO008.027 When he prepared the heavens, I was there: when he set a compass upon the face of the depth: %%% Bwe yanyweza eggulu, nze naliyo: Bwe yakulunga amaaso g'obuziba: 20PRO008.028 When he established the clouds above: when he strengthened the fountains of the deep: %%% Bwe yanyweza eggulu waggulu: Ensulo ez'ennyanja bwe zaafuuka ez'amaanyi: omubi yeetonnyezaako ebbala. 20PRO008.029 When he gave to the sea his decree, that the waters should not pass his commandment: when he appointed the foundations of the earth: %%% Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okusobya ekiragiro kye: Bwe yalamba emisingi gy'ensi: 20PRO008.030 Then I was by him, as one brought up with him: and I was daily his delight, rejoicing always before him; %%% Kale nze nga ndi awo gy'ali ng'omukoza: Era bulijjo yansanyukiranga, Nga njaguliza bulijjo mu maaso ge; 20PRO008.031 Rejoicing in the habitable part of his earth; and my delights were with the sons of men. %%% Nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu; N'essanyu lyange lyali n'abaana b'abantu. 20PRO008.032 Now therefore hearken unto me, O ye children: for blessed are they that keep my ways. %%% Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange. 20PRO008.033 Hear instruction, and be wise, and refuse it not. %%% Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi, So temugagaananga. 20PRO008.034 Blessed is the man that heareth me, watching daily at my gates, waiting at the posts of my doors. %%% Alina omukisa omuntu ampulira, Ng'atunuulira bulijjo ku nzigi zange, Ng'alinda awali emifuubeeto gy'enzigi zange. 20PRO008.035 For whoso findeth me findeth life, and shall obtain favour of the LORD. %%% Kubanga buli alaba nze alaba bulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama. 20PRO008.036 But he that sinneth against me wrongeth his own soul: all they that hate me love death. %%% Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye: Bonna abakyawa nze baagala okufa. 20PRO009.001 Wisdom hath builded her house, she hath hewn out her seven pillars: %%% Amagezi gazimbye ennyumba yaago, Gatemye empagi zaago musanvu: 20PRO009.002 She hath killed her beasts; she hath mingled her wine; she hath also furnished her table. %%% Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago; Era gategese emmeeza yaago. 20PRO009.003 She hath sent forth her maidens: she crieth upon the highest places of the city, %%% Gasindise abawala baago, googerera waggulu. Ku bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu, 20PRO009.004 Whoso is simple, let him turn in hither: as for him that wanteth understanding, she saith to him, %%% Nti Buli atalina magezi akyamire muno: Oyo abulwa okutegeera gamugamba nti 20PRO009.005 Come, eat of my bread, and drink of the wine which I have mingled. %%% Mujje mulye ku mmere yange, Era munywe ku mwenge gwe ntabudde. 20PRO009.006 Forsake the foolish, and live; and go in the way of understanding. %%% Mulekenga, mmwe abatalina magezi, mubeerenga abalamu; Era mutambulirenga mu kkubo ery'okutegeera. 20PRO009.007 He that reproveth a scorner getteth to himself shame: and he that rebuketh a wicked man getteth himself a blot. %%% Anenya omukudaazi yeeswaza: N'oyo abuulirira omubi yeetonnyezaako ebbala. 20PRO009.008 Reprove not a scorner, lest he hate thee: rebuke a wise man, and he will love thee. %%% Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa: Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga. 20PRO009.009 Give instruction to a wise man, and he will be yet wiser: teach a just man, and he will increase in learning. %%% Yigirizanga ow'amagezi, aneeyongeranga okuba n'amagezi: Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyita. 20PRO009.010 The fear of the LORD is the beginning of wisdom: and the knowledge of the holy is understanding. %%% Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera. 20PRO009.011 For by me thy days shall be multiplied, and the years of thy life shall be increased. %%% Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwa, N’emyaka egy’obulamu bwo girisukkirizibwa. 20PRO009.012 If thou be wise, thou shalt be wise for thyself: but if thou scornest, thou alone shalt bear it. %%% Oba nga olina amagezi, weebeera n’amagezi wekka: Era bw’onoonyoomanga, kuliba ku ggwe wekka. 20PRO009.013 A foolish woman is clamorous: she is simple, and knoweth nothing. %%% Omukazi omusirisiru aleekaana; Talina magezi, so taliiko ky'amanyi. 20PRO009.014 For she sitteth at the door of her house, on a seat in the high places of the city, %%% Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu, 20PRO009.015 To call passengers who go right on their ways: %%% Okuyita abo abayitawo, Abakwatira ddala amakubo gaabwe, 20PRO009.016 Whoso is simple, let him turn in hither: and as for him that wanteth understanding, she saith to him, %%% Nti Buli atalina magezi akyamire muno: N'oyo abulwa okutegeera amugamba nti 20PRO009.017 Stolen waters are sweet, and bread eaten in secret is pleasant. %%% Amazzi amabbe ge gawooma, N'emmere eriirwa mu kyama ye esanyusa. 20PRO009.018 But he knoweth not that the dead are there; and that her guests are in the depths of hell. %%% Naye tamanyi ng'abafu bali eyo: Ng'abagenyi be bali mu buziba bw'emagombe. 20PRO010.001 The 20PROverbs of Solomon. A wise son maketh a glad father: but a foolish son is the heaviness of his mother. %%% Engero za Sulemaani. Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina. 20PRO010.002 Treasures of wickedness 20PROfit nothing: but righteousness delivereth from death. %%% Obugagga obw'obubi tebuliiko kye bugasa: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa. 20PRO010.003 The LORD will not suffer the soul of the righteous to famish: but he casteth away the substance of the wicked. %%% Mukama taalekenga mmeeme ya mutuukirivu okufa enjala: Naye okwegomba kw'ababi akusindika eri. 20PRO010.004 He becometh poor that dealeth with a slack hand: but the hand of the diligent maketh rich. %%% Ayavuwala oyo akola n'omukono oguddiridde: Naye omukono gw'abanyiikivu guleeta obugagga. 20PRO010.005 He that gathereth in summer is a wise son: but he that sleepeth in harvest is a son that causeth shame. %%% Akungulira mu kyeya mwana wa magezi: Naye oyo eyeebakira mu biro eby'okukunguliramu ye mwana akwasa ensonyi. 20PRO010.006 Blessings are upon the head of the just: but violence covereth the mouth of the wicked. %%% Emikisa giba ku mutwe gw'omutuukirivu: Naye ekyejo kibikka ku kamwa k'ababi. 20PRO010.007 The memory of the just is blessed: but the name of the wicked shall rot. %%% Ekijjukizo ky'omutuukirivu kirina omukisa: Naye erinnya ly'ababi lirivunda. 20PRO010.008 The wise in heart will receive commandments: but a prating fool shall fall. %%% Alina omutima ogw'amagezi anakkirizanga ebiragiro: Naye omubuyabuya aligwa. 20PRO010.009 He that walketh uprightly walketh surely: but he that perverteth his ways shall be known. %%% Atambulira mu bugolokofu ye atambula emirembe: Naye akyamya amakubo ge alimanyibwa. 20PRO010.010 He that winketh with the eye causeth sorrow: but a prating fool shall fall. %%% Atemya eriiso eleeta ennaku: Naye omusirusiru omubuyabuya aligwa. 20PRO010.011 The mouth of a righteous man is a well of life: but violence covereth the mouth of the wicked. %%% Akamwa k'omutuukirivu nsulo ya bulamu: Naye ekyejo kibikka ku kamwa k'ababi. 20PRO010.012 Hatred stirreth up strifes: but love covereth all sins. %%% Okukyawa kuleeta ennyombo: Naye okwagala kubikka ku byonoono byonna. 20PRO010.013 In the lips of him that hath understanding wisdom is found: but a rod is for the back of him that is void of understanding. %%% Mu mimwa gy'oyo alina okwawula mulabikamu amagezi: Naye omuggo gwa mabega g'oyo abulwa okutegeera. 20PRO010.014 Wise men lay up knowledge: but the mouth of the foolish is near destruction. %%% Ab'amagezi batereka okumanya: Naye akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira okutavaawo. 20PRO010.015 The rich man's wealth is his strong city: the destruction of the poor is their poverty. %%% Ebintu eby'omugagga kye kibuga kye eky'amaanyi: Abaavu okuzikirira kwabwe bwavu bwabwe. 20PRO010.016 The labour of the righteous tendeth to life: the fruit of the wicked to sin. %%% Omulimu ogw'omutuukirivu guleeta bulamu; Ekyengera eky'omubi kireeta kwonoona. 20PRO010.017 He is in the way of life that keepeth instruction: but he that refuseth re20PROof erreth. %%% Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa akyama. 20PRO010.018 He that hideth hatred with lying lips, and he that uttereth a slander, is a fool. %%% Oyo akisa okukyawa wa mimwa gya bulimba; N'oyo awaayiriza musirusiru. 20PRO010.019 In the multitude of words there wanteth not sin: but he that refraineth his lips is wise. %%% Mu lufulube lw'ebigambo temubula kusobya: Naye oyo aziyiza emimwa gye akola eby'amagezi. 20PRO010.020 The tongue of the just is as choice silver: the heart of the wicked is little worth. %%% Olulimi lw'omutuukirivu ffeeza nnonde: Omutima gw'ababi tegugasa nnyo. 20PRO010.021 The lips of the righteous feed many: but fools die for want of wisdom. %%% Emimwa gy'omutuukirivu giriisa bangi: Naye abasirusiru bafa olw'okubulwa okutegeera. 20PRO010.022 The blessing of the LORD, it maketh rich, and he addeth no sorrow with it. %%% Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, So tagatta buyinike bwonna wamu nagwo. 20PRO010.023 It is as sport to a fool to do mischief: but a man of understanding hath wisdom. %%% Okukola obubi muzannyo gwa musirusiru: Era bwe gatyo amagezi bwe gabeera eri omuntu alina okutegeera. 20PRO010.024 The fear of the wicked, it shall come upon him: but the desire of the righteous shall be granted. %%% Omubi ky'atya kirimujjira: N'ekyo abatuukirivu kye beegomba balikiweebwa. 20PRO010.025 As the whirlwind passeth, so is the wicked no more: but the righteous is an everlasting foundation. %%% Empewo ez'akazimu bwe ziyita, kale omubi nga takyaliwo: Naye omutuukirivu musingi gwa lubeerera. 20PRO010.026 As vinegar to the teeth, and as smoke to the eyes, so is the sluggard to them that send him. %%% Ng'omwenge omukaatuufu bwe gugira amannyo, era ng'omukka bwe gugira amaaso, N'omugayaavu bw'agira bw'atyo abo abamutuma. 20PRO010.027 The fear of the LORD 20PROlongeth days: but the years of the wicked shall be shortened. %%% Okutya Mukama kuwangaaza: Naye emyaka gy'ababi girisalibwako. 20PRO010.028 The hope of the righteous shall be gladness: but the expectation of the wicked shall perish. %%% Essuubi ery'abatuukirivu liriba ssanyu: Naye okusuubira kw'ababi kulizikirira. 20PRO010.029 The way of the LORD is strength to the upright: but destruction shall be to the workers of iniquity. %%% Ekkubo lya Mukama kigo eri omugolokofu; Naye kuzikirira eri abo abakola ebitali bya butuukirivu. 20PRO010.030 The righteous shall never be removed: but the wicked shall not inhabit the earth. %%% Omutuukirivu tajjululwenga ennaku zonna: Naye ababi tebalibeera mu nsi. 20PRO010.031 The mouth of the just bringeth forth wisdom: but the froward tongue shall be cut out. %%% Akamwa k'omutuukirivu kazaala amagazi: Naye olulimi olubambaavu lulimalibwawo. 20PRO010.032 The lips of the righteous know what is acceptable: but the mouth of the wicked speaketh frowardness. %%% Emimwa gy'omutuukirivu gigaanyi ebikkirizibwa: Naye omumwa gw'ababi gwogera bubambaavu. 20PRO011.001 A false balance is abomination to the LORD: but a just weight is his delight. %%% Eminzaani ey'obulimba ya muzizo eri Mukama: Naye ekipima ekituufu ky'asanyukira. 20PRO011.002 When pride cometh, then cometh shame: but with the lowly is wisdom. %%% Amalala lwe gajja, lwe wajja n'ensonyi: Naye amagezi gaba n'abeetoowaza. 20PRO011.003 The integrity of the upright shall guide them: but the perverseness of transgressors shall destroy them. %%% Obutayonoona obw'abagolokofu bulibaluŋŋamya: Naye obubambaavu bw'abo abasala enkwe bulibazikiriza. 20PRO011.004 Riches profit not in the day of wrath: but righteousness delivereth from death. %%% Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw'obusungu: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa. 20PRO011.005 The righteousness of the perfect shall direct his way: but the wicked shall fall by his own wickedness. %%% Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye. 20PRO011.006 The righteousness of the upright shall deliver them: but transgressors shall be taken in their own naughtiness. %%% Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Abo abasala enkwe balikwasibwa n'ettima lyabwe bo. 20PRO011.007 When a wicked man dieth, his expectation shall perish: and the hope of unjust men perisheth. %%% Omuntu omubi bw'afanga, okusuubira kwe kuzikiriranga: N'essuubi ery'obutali butuukikirivu libula. 20PRO011.008 The righteous is delivered out of trouble, and the wicked cometh in his stead. %%% Omutuukirivu awonyezebwa mu nnaku, Omubi n'adda mu kifo kye. 20PRO011.009 An hypocrite with his mouth destroyeth his neighbour: but through knowledge shall the just be delivered. %%% Atamanyi Katonda azikiriza munne n'akamwa ke: Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya. 20PRO011.010 When it goeth well with the righteous, the city rejoiceth: and when the wicked perish, there is shouting. %%% Abatuukirivu bwe balaba ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe babula, wabaawo okuleekaana. 20PRO011.011 By the blessing of the upright the city is exalted: but it is overthrown by the mouth of the wicked. %%% Omukisa ogw'abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga: Naye akamwa k'ababi ke kakisuula. 20PRO011.012 He that is void of wisdom despiseth his neighbour: but a man of understanding holdeth his peace. %%% Anyooma munne abulwa amagezi: Naye omuntu alina okutegeera asirika. 20PRO011.013 A talebearer revealeth secrets: but he that is of a faithful spirit concealeth the matter. %%% Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Naye oyo alina omwoyo omwesigwa akisa ekigambo. 20PRO011.014 Where no counsel is, the people fall: but in the multitude of counsellors there is safety. %%% Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe. 20PRO011.015 He that is surety for a stranger shall smart for it: and he that hateth suretiship is sure. %%% Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi alibalagalwa: Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira. 20PRO011.016 A gracious woman retaineth honour: and strong men retain riches. %%% Omukazi ow'ekisa aguguba n'ekitiibwa: N'abasajja ab'amawaggali baguguba n'obugagga. 20PRO011.017 The merciful man doeth good to his own soul: but he that is cruel troubleth his own flesh. %%% Asaasira akola bulungi emmeeme ye ye: Naye omukambwe ateganya omubiri gwe ye. 20PRO011.018 The wicked worketh a deceitful work: but to him that soweth righteousness shall be a sure reward. %%% Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira. 20PRO011.019 As righteousness tendeth to life: so he that pursueth evil pursueth it to his own death. %%% Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu: N'oyo agoberera obubi yetta yekka. 20PRO011.020 They that are of a froward heart are abomination to the LORD: but such as are upright in their way are his delight. %%% Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama: Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira b'asanyukira. 20PRO011.021 Though hand join in hand, the wicked shall not be unpunished: but the seed of the righteous shall be delivered. %%% Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, omuntu omubi taliwona kubonerezebwa: Naye ezzadde ery'abatuukirivu liriwonyezebwa. 20PRO011.022 As a jewel of gold in a swine's snout, so is a fair woman which is without discretion. %%% Ng'ekyobuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina kuteesa. 20PRO011.023 The desire of the righteous is only good: but the expectation of the wicked is wrath. %%% Abatuukirivu kye beegomba birungi bisa: Naye ababi kye basuubira busungu. 20PRO011.024 There is that scattereth, and yet increaseth; and there is that withholdeth more than is meet, but it tendeth to poverty. %%% Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi. 20PRO011.025 The liberal soul shall be made fat: and he that watereth shall be watered also himself. %%% Emmeeme egabagaba eneegejjanga: N'oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini. 20PRO011.026 He that withholdeth corn, the people shall curse him: but blessing shall be upon the head of him that selleth it. %%% Amma eŋŋaano, abantu balimukolimira: Naye omukisa gunaabanga ku mutwe gw'oyo agitunda. 20PRO011.027 He that diligently seeketh good procureth favour: but he that seeketh mischief, it shall come unto him. %%% Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anoonyanga n'okuganja: Naye akenneenya ettima, linaamujjiranga. 20PRO011.028 He that trusteth in his riches shall fall; but the righteous shall flourish as a branch. %%% Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaayeranga ng'amalagala amabisi. 20PRO011.029 He that troubleth his own house shall inherit the wind: and the fool shall be servant to the wise of heart. %%% Ateganya ennyumba ye ye alisikira empewo: N'omusirisuru aliba muddu w'oyo alina omutima ogw'amagezi. 20PRO011.030 The fruit of the righteous is a tree of life; and he that winneth souls is wise. %%% Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu. 20PRO011.031 Behold, the righteous shall be recompensed in the earth: much more the wicked and the sinner. %%% Laba, omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: Omubi n'omwonoonyi tebalisinga nnyo? 20PRO012.001 Whoso loveth instruction loveth knowledge: but he that hateth reproof is brutish. %%% Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋanga ensolo. 20PRO012.002 A good man obtaineth favour of the LORD: but a man of wicked devices will he condemn. %%% Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe embi alimusalira omusango okumusinga. 20PRO012.003 A man shall not be established by wickedness: but the root of the righteous shall not be moved. %%% Omuntu taanywezebwenga lwa bubi: Naye emmizi gy'abatuukirivu tegijjululwenga ennaku zonna. 20PRO012.004 A virtuous woman is a crown to her husband: but she that maketh ashamed is as rottenness in his bones. %%% Omukazi eyeegendereza ngule eri bba: Naye aswaza kivundu mu magumba ge. 20PRO012.005 The thoughts of the righteous are right: but the counsels of the wicked are deceit. %%% Ebirowoozo eby'abatuukirivu bya nsonga: Naye ababi bye bateesa bulimba. 20PRO012.006 The words of the wicked are to lie in wait for blood: but the mouth of the upright shall deliver them. %%% Ebigambo eby'ababi bya kutega musaayi: Naye akamwa k'abagolokofu kalibawonya. 20PRO012.007 The wicked are overthrown, and are not: but the house of the righteous shall stand. %%% Ababi bameggebwa ne babula: Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira. 20PRO012.008 A man shall be commended according to his wisdom: but he that is of a perverse heart shall be despised. %%% Omuntu alisiimibwa ng'amagezi ge bwe gali: Naye oyo alina omutima omukyamu alinyoomebwa. 20PRO012.009 He that is despised, and hath a servant, is better than he that honoureth himself, and lacketh bread. %%% Oyo atayitibwa ka buntu, era alina omuddu, Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa era abulwa eby'okulya. 20PRO012.010 A righteous man regardeth the life of his beast: but the tender mercies of the wicked are cruel. %%% Omuntu omutuukirivu alowooza obulamu bw'ensolo ye: Naye okusaasira kw'ababi kukambwe. 20PRO012.011 He that tilleth his land shall be satisfied with bread: but he that followeth vain persons is void of understanding. %%% Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abataliiko kye bagasa abuliddwa okutegeera. 20PRO012.012 The wicked desireth the net of evil men: but the root of the righteous yieldeth fruit. %%% Omubi yeegomba ekitimba ky'abasajja ab'ekyejo: Naye ekikolo eky'abatuukirivu kibala ebibala. 20PRO012.013 The wicked is snared by the transgression of his lips: but the just shall come out of trouble. %%% Mu kusobya kw'emimwa mulimu ekyambika eri omuntu ow'ekyejo: 20PRO012.014 A man shall be satisfied with good by the fruit of his mouth: and the recompence of a man's hands shall be rendered unto him. %%% Omuntu alikkuta ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: N'ebikolwa eby'emikono gy'omuntu alibisasulibwa. 20PRO012.015 The way of a fool is right in his own eyes: but he that hearkeneth unto counsel is wise. %%% Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awulira okuweererwa ebigambo. 20PRO012.016 A fool's wrath is presently known: but a prudent man covereth shame. %%% Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu akisa ensonyi. 20PRO012.017 He that speaketh truth sheweth forth righteousness: but a false witness deceit. %%% Ayatula eby'amazima ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa. 20PRO012.018 There is that speaketh like the piercings of a sword: but the tongue of the wise is health. %%% Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza ng'okufumita okw'ekitala: Naye olulimi lw'ab'amagezi kwe kulaama. 20PRO012.019 The lip of truth shall be established for ever: but a lying tongue is but for a moment. %%% Omumwa ogw'amazima gunaanywezebwanga emirembe gyonna: Naye olulimi olulimba lwa kaseera buseera. 20PRO012.020 Deceit is in the heart of them that imagine evil: but to the counsellors of peace is joy. %%% Okudyeka kuli mu mitima gy'abo abateesa obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu. 20PRO012.021 There shall no evil happen to the just: but the wicked shall be filled with mischief. %%% Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba: Naye ab'ekyejo balikkuta obubi. 20PRO012.022 Lying lips are abomination to the LORD: but they that deal truly are his delight. %%% Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama: Naye abo abakola eby'amazima b'asanyukira. 20PRO012.023 A prudent man concealeth knowledge: but the heart of fools proclaimeth foolishness. %%% Omuntu omutegeevu akisa okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru gulaalika obusirusiru. 20PRO012.024 The hand of the diligent shall bear rule: but the slothful shall be under tribute. %%% Omukono gw'abanyiikivu gulifuga: Naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw'obuddu. 20PRO012.025 Heaviness in the heart of man maketh it stoop: but a good word maketh it glad. %%% Ennaku bwe ziba mu mutima gw'omuntu zigukutamya; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa. 20PRO012.026 The righteous is more excellent than his neighbour: but the way of the wicked seduceth them. %%% Omutuukirivu aba musaale eri munne: Naye ekkubo ery'ababi libawabya. 20PRO012.027 The slothful man roasteth not that which he took in hunting: but the substance of a diligent man is precious. %%% Omuntu omugayaavu tayokya ekyo ky'akutte ng'ayigga; Naye ebintu eby'omuwendo omungi eby'abantu biba bya munyiikivu. 20PRO012.028 In the way of righteousness is life: and in the pathway thereof there is no death. %%% Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu; Ne mu luwenda lw'abo temuli kufa. 20PRO013.001 A wise son heareth his father's instruction: but a scorner heareth not rebuke. %%% Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa. 20PRO013.002 A man shall eat good by the fruit of his mouth: but the soul of the transgressors shall eat violence. %%% Omuntu anaalyanga ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: Naye emmeeme ey'abasala enkwe eneeryanga kugirirwa kyejo. 20PRO013.003 He that keepeth his mouth keepeth his life: but he that openeth wide his lips shall have destruction. %%% Akuuma akamwa ke anyweza obulamu bwe: Naye ayasama ennyo akamwa ke aliba n'okuzikirira. 20PRO013.004 The soul of the sluggard desireth, and hath nothing: but the soul of the diligent shall be made fat. %%% Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba n'eteba na kintu: Naye emmeeme ey'abanyiikivu eneegejjanga. 20PRO013.005 A righteous man hateth lying: but a wicked man is loathsome, and cometh to shame. %%% Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba: Naye omuntu omubi mugwagwa, era akwatibwa ensonyi. 20PRO013.006 Righteousness keepeth him that is upright in the way: but wickedness overthroweth the sinner. %%% Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu: Naye ekyejo kisuula oyo alina ebibi. 20PRO013.007 There is that maketh himself rich, yet hath nothing: there is that maketh himself poor, yet hath great riches. %%% Wabaawo eyeegaggawaza, naye nga talina kintu: Wabaawo eyeeyavuwaza, naye ng'alina obugagga bungi. 20PRO013.008 The ransom of a man's life are his riches: but the poor heareth not rebuke. %%% Obugagga bwe bwe bununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, tawulira kukanga kwonna. 20PRO013.009 The light of the righteous rejoiceth: but the lamp of the wicked shall be put out. %%% Omusana ogw'abatuukirivu gusanyuka: Naye ettabaaza ey'ababi erizikizibwa. 20PRO013.010 Only by pride cometh contention: but with the well advised is wisdom. %%% Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abateesa obulungi. 20PRO013.011 Wealth gotten by vanity shall be diminished: but he that gathereth by labour shall increase. %%% Obugagga obufunibwa olw'ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa: Naye oyo akuaanya ng'akola emirimu aliba n'okwala. 20PRO013.012 Hope deferred maketh the heart sick: but when the desire cometh, it is a tree of life. %%% Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu. 20PRO013.013 Whoso despiseth the word shall be destroyed: but he that feareth the commandment shall be rewarded. %%% Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo atya ekiragiro aliweebwa empeera. 20PRO013.014 The law of the wise is a fountain of life, to depart from the snares of death. %%% Etteeka ery'omugezigezi nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa. 20PRO013.015 Good understanding giveth favour: but the way of transgressors is hard. %%% Okutegeera okulungi kuleeta okuganja: Naye ekkubo ery'abasala enkwe bbi. 20PRO013.016 Every prudent man dealeth with knowledge: but a fool layeth open his folly. %%% Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya: Naye omusirusiru ayaliira obusirusiru. 20PRO013.017 A wicked messenger falleth into mischief: but a faithful ambassador is health. %%% Omubaka ow'ekyejo agwa mu bubi: Naye omutume omwesigwa kwe kulaama. 20PRO013.018 Poverty and shame shall be to him that refuseth instruction: but he that regardeth reproof shall be honoured. %%% Obwavu n'ensonyi biriba by'oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa. 20PRO013.019 The desire accomplished is sweet to the soul: but it is abomination to fools to depart from evil. %%% Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme: Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru. 20PRO013.020 He that walketh with wise men shall be wise: but a companion of fools shall be destroyed. %%% Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye munnaabwe w'abasirusiru alibalagalwa. 20PRO013.021 Evil pursueth sinners: but to the righteous good shall be repayed. %%% Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi. 20PRO013.022 A good man leaveth an inheritance to his children's children: and the wealth of the sinner is laid up for the just. %%% Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu. 20PRO013.023 Much food is in the tillage of the poor: but there is that is destroyed for want of judgment. %%% Mu nnimiro ez'abaavu mulimu emmere nnyingi: Naye wabaawo azikirizibwa olw'obutagoberera nsonga. 20PRO013.024 He that spareth his rod hateth his son: but he that loveth him chasteneth him betimes. %%% Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali. 20PRO013.025 The righteous eateth to the satisfying of his soul: but the belly of the wicked shall want. %%% Omutuukirivu alya, emmeeme ye n’ekkuta: Naye olubuto lw'ababi lulirumwa enjala. 20PRO014.001 Every wise woman buildeth her house: but the foolish plucketh it down with her hands. %%% Buli mukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye. Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye. 20PRO014.002 He that walketh in his uprightness feareth the LORD: but he that is perverse in his ways despiseth him. %%% Atambulira mu bugolokofu bwe atya Mukama: Naye akyamakyama mu makubo ge amunyooma. 20PRO014.003 In the mouth of the foolish is a rod of pride: but the lips of the wise shall preserve them. %%% Mu kamwa k'omusirusiru mulimu omuggo ogw'amalala: Naye emimwa gy'ab'amagezi ginaabakuumanga. 20PRO014.004 Where no oxen are, the crib is clean: but much increase is by the strength of the ox. %%% Eteri nte ekisibo kiba kirongoofu: Naye amaanyi g'ente galeeta okwala kungi. 20PRO014.005 A faithful witness will not lie: but a false witness will utter lies. %%% Omujulirwa omwesigwa talimba: Naye omujulirwa ow'obulimba ayogera eby'okuwaayiriza. 20PRO014.006 A scorner seeketh wisdom, and findeth it not: but knowledge is easy unto him that understandeth. %%% Anyooma anoonya amagezi n'atagalaba: Naye okumanya kwangu eri oyo alina okutegeera. 20PRO014.007 Go from the presence of a foolish man, when thou perceivest not in him the lips of knowledge. %%% Yingira mu masso g'omusirusiru, Toolabe ku ye mimwa gya kumanya. 20PRO014.008 The wisdom of the prudent is to understand his way: but the folly of fools is deceit. %%% Okutegeera ekkubo lye ge magezi g'omutegeevu: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe kulimba. 20PRO014.009 Fools make a mock at sin: but among the righteous there is favour. %%% Abasirusiru bakudaalira omusango: Naye mu bagolokofu mulimu ekisa. 20PRO014.010 The heart knoweth his own bitterness; and a stranger doth not intermeddle with his joy. %%% Omutima gumanya okulumwa kwagwo; So n'omugenyi teyeetabula mu ssanyu lyagwo. 20PRO014.011 The house of the wicked shall be overthrown: but the tabernacle of the upright shall flourish. %%% Ennyumba ey'ababi erisuulibwa: Naye eweema ey'abagolokofu eneebanga n'omukisa. 20PRO014.012 There is a way which seemeth right unto a man, but the end thereof are the ways of death %%%2 Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo ge makubo ag'okufa. 20PRO014.013 Even in laughter the heart is sorrowful; and the end of that mirth is heaviness. %%% Ne bwe guseka omutima gunakuwala; N'enkomerero y'okuseka buyinike. 20PRO014.014 The backslider in heart shall be filled with his own ways: and a good man shall be satisfied from himself. %%% Adda ennyuma mu mutima gwe alikkuta amakubo ge ye: N'omuntu omulungi alikkuta ye yennyini. 20PRO014.015 The simple believeth every word: but the prudent man looketh well to his going. %%% Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: Naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge. 20PRO014.016 A wise man feareth, and departeth from evil: but the fool rageth, and is confident. %%% Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusirusiru aba n'ettitimbuli, era yeeyinula. 20PRO014.017 He that is soon angry dealeth foolishly: and a man of wicked devices is hated. %%% Ayanguwa okusunguwala alikola eby'obusirusiru: N'omuntu asala enkwe embi akyayibwa. 20PRO014.018 The simple inherit folly: but the prudent are crowned with knowledge. %%% Abatalina magezi basikira obusirusiru: Naye abategeevu bassibwako engule kwe kumanya. 20PRO014.019 The evil bow before the good; and the wicked at the gates of the righteous. %%% Ababi bakutamira abalungi; N'ab'ekyejo awali emiryango egy'abatuukirivu. 20PRO014.020 The poor is hated even of his own neighbour: but the rich hath many friends. %%% Omwavu ne munne amukyawa: Naye omugagga alina emikwano mingi: 20PRO014.021 He that despiseth his neighbour sinneth: but he that hath mercy on the poor, happy is he. %%% Anyooma munne ayonoona: Naye asaasira abaavu alina omukisa. 20PRO014.022 Do they not err that devise evil? but mercy and truth shall be to them that devise good. %%% Abagunja obubi tebawaba? Naye okusaasirwa n'amazima binaabanga byabwe abagunja obulungi. 20PRO014.023 In all labour there is profit: but the talk of the lips tendeth only to penury. %%% Omulimu gwonna guliko kye gugasa: Naye okubuyabuya kw'emimwa kwavuwaza bwavuwaza. 20PRO014.024 The crown of the wise is their riches: but the foolishness of fools is folly. %%% Obugagga bwabwe ye ngule ey'ab'amagezi: Naye obusirusiru bw'abasirusiru busirusiru bwereere. 20PRO014.025 A true witness delivereth souls: but a deceitful witness speaketh lies. %%% Omujulirwa ow'amazima awonya emmeeme z'abantu: Naye aleeta eby'obulimba akyamya. 20PRO014.026 In the fear of the LORD is strong confidence: and his children shall have a place of refuge. %%% Mu kutya Mukama mulimu okuguma ennyo omwoyo: N'abaana be baliba n'obuddukiro. 20PRO014.027 The fear of the LORD is a fountain of life, to depart from the snares of death. %%% Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa. 20PRO014.028 In the multitude of people is the king's honour: but in the want of people is the destruction of the prince. %%% Mu lufulube lw'abantu mwe muli ekitiibwa kya kabaka: Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira: 20PRO014.029 He that is slow to wrath is of great understanding: but he that is hasty of spirit exalteth folly. %%% Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi: Naye alina omwoyo ogwanguyiriza agulumiza obusirusiru. 20PRO014.030 A sound heart is the life of the flesh: but envy the rottenness of the bones. %%% Omutima omutuufu bwe bulamu obw'omubiri: Naye obuggya kwe kuvunda kw'amagumba. 20PRO014.031 He that oppresseth the poor reproacheth his Maker: but he that honoureth him hath mercy on the poor. %%% Ajooga omwavu avuma Omutonzi we: Naye asaasira oyo eyeetaaga amussaamu ekitiibwa. 20PRO014.032 The wicked is driven away in his wickedness: but the righteous hath hope in his death. %%% Omubi asindikibwa wansi mu kwonoona kwe: Naye omutuukirivu alina essuubi mu kufa kwe: 20PRO014.033 Wisdom resteth in the heart of him that hath understanding: but that which is in the midst of fools is made known. %%% Amagezi gabeera mu mutima gw'oyo alina okutegeera: Naye ekiri ku kitundu eky'abasirusiru eky'omunda kimanyisibwa. 20PRO014.034 Righteousness exalteth a nation: but sin is a reproach to any people. %%% Obutuukirivu bugulumiza eggwanga; Naye ekibi kivumisa eggwanga lyonna. 20PRO014.035 The king's favour is toward a wise servant: but his wrath is against him that causeth shame. %%% Omuddu akola eby'amagezi ye aganja eri kabaka: Naye obusungu bwe bunaabanga eri oyo akwasa ensonyi. 20PRO015.001 A soft answer turneth away wrath: but grievous words stir up anger. %%% Okuddamu n'eggonjebwa kukyusa ekuruyi: Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu. 20PRO015.002 The tongue of the wise useth knowledge aright: but the mouth of fools poureth out foolishness. %%% Olulimi lw'ab'amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana: Naye akamwa k'abasirusiru kayiwa obusirusiru. 20PRO015.003 The eyes of the LORD are in every place, beholding the evil and the good. %%% Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi. 20PRO015.004 A wholesome tongue is a tree of life: but perverseness therein is a breach in the spirit. %%% Olulimi oluwonya muti gwa bulamu: Naye bwe luba n'obukyamu, omwoyo gumenyeka. 20PRO015.005 A fool despiseth his father's instruction: but he that regardeth reproof is prudent. %%% Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye oyo assaayo omwoyo eri okunenya afuna obutegeevu. 20PRO015.006 In the house of the righteous is much treasure: but in the revenues of the wicked is trouble. %%% Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku. 20PRO015.007 The lips of the wise disperse knowledge: but the heart of the foolish doeth not so. %%% Emimwa gy'ab'amagezi gibunya okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola. 20PRO015.008 The sacrifice of the wicked is an abomination to the LORD: but the prayer of the upright is his delight. %%% Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira. 20PRO015.009 The way of the wicked is an abomination unto the LORD: but he loveth him that followeth after righteousness. %%% Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu. 20PRO015.010 Correction is grievous unto him that forsaketh the way: and he that hateth reproof shall die. %%% Waliwo okubuulirirwa okuzibu eri oyo aleka ekkubo lyennyini: Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa. 20PRO015.011 Hell and destruction are before the LORD: how much more then the hearts of the children of men? %%% Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale emitima gy'abaana b'abantu tegisinga nnyo? 20PRO015.012 A scorner loveth not one that reproveth him: neither will he go unto the wise. %%% Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Tayagala kugenda eri ab'amagezi: 20PRO015.013 A merry heart maketh a cheerful countenance: but by sorrow of the heart the spirit is broken. %%% Omutima ogujaguza gusanyusa amaaso: Naye obuyinike obw'omutima bwe bumenya omwoyo. 20PRO015.014 The heart of him that hath understanding seeketh knowledge: but the mouth of fools feedeth on foolishness. %%% Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye akamwa k'abasirusiru emmere yaako busirusiru. 20PRO015.015 All the days of the afflicted are evil: but he that is of a merry heart hath a continual feast. %%% Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo. 20PRO015.016 Better is little with the fear of the LORD than great treasure and trouble therewith. %%% Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga bungi obuliko obuyinike. 20PRO015.017 Better is a dinner of herbs where love is, than a stalled ox and hatred therewith. %%% Amaluma awali okwagalaaa Gasinga ente eya ssava awali okukyawagana. 20PRO015.018 A wrathful man stirreth up strife: but he that is slow to anger appeaseth strife. %%% Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka. 20PRO015.019 The way of the slothful man is as an hedge of thorns: but the way of the righteous is made plain. %%% Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo. 20PRO015.020 A wise son maketh a glad father: but a foolish man despiseth his mother. %%% Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina. 20PRO015.021 Folly is joy to him that is destitute of wisdom: but a man of understanding walketh uprightly. %%% Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera aluŋŋamya amagenda ge. 20PRO015.022 Without counsel purposes are disappointed: but in the multitude of counsellors they are established. %%% Awatali magezi okuteesa kufa: Naye kunywerera mu lufulube lw'abo abateesa ebigambo. 20PRO015.023 A man hath joy by the answer of his mouth: and a word spoken in due season, how good is it! %%% Omuntu asanyukira okuddamu okw'omu kamwa ke: N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi! 20PRO015.024 The way of life is above to the wise, that he may depart from hell beneath. %%% Eri ow'amagezi ekkubo ery'obulamu lyambuka waggulu, Alyoke ave mu magombe wansi. 20PRO015.025 The LORD will destroy the house of the proud: but he will establish the border of the widow. %%% Mukama alisimbula ennyumba ey'ab'amalala: Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu. 20PRO015.026 The thoughts of the wicked are an abomination to the LORD: but the words of the pure are pleasant words. %%% Okusala enkwe embi kwa muzizo eri Mukama: Naye ebigambo ebisanyusa biba birongoofu. 20PRO015.027 He that is greedy of gain troubleth his own house; but he that hateth gifts shall live. %%% Ayaayaanira amagoba ateganya ennyumba ye ye: Naye akyawa enguzi ye anaabanga omulamu. 20PRO015.028 The heart of the righteous studieth to answer: but the mouth of the wicked poureth out evil things. %%% Omutima gw'omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula: Naye akamwa k'ababi kafuka ebitasaana. 20PRO015.029 The LORD is far from the wicked: but he heareth the prayer of the righteous. %%% Mukama aba wala ababi: Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu. 20PRO015.030 The light of the eyes rejoiceth the heart: and a good report maketh the bones fat. %%% Omusana ogw'amaaso gusanyusa omutima: N'ebigambo ebirungi bigezza amagumba. 20PRO015.031 The ear that heareth the reproof of life abideth among the wise. %%% Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu Kunaabeeranga mu b'amagezi. 20PRO015.032 He that refuseth instruction despiseth his own soul: but he that heareth reproof getteth understanding. %%% Agaana okubuulirirwa anyooma emmeeme ye: Naye oyo awulira okunenya afuna okutegeera. 20PRO015.033 The fear of the LORD is the instruction of wisdom; and before honour is humility. %%% Okutya Mukama amagezi kwe gayigiriza; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa. 20PRO016.001 The preparations of the heart in man, and the answer of the tongue, is from the LORD. %%% Okutegeka omutima kugwanira muntu: Naye okwanukula kw'olulimi kuva eri Mukama. 20PRO016.002 All the ways of a man are clean in his own eyes; but the LORD weigheth the spirits. %%% Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo. 20PRO016.003 Commit thy works unto the LORD, and thy thoughts shall be established. %%% Emirimu gyo giterese Mukama, N'ebirowoozo byo binaanywezebwanga. 20PRO016.004 The LORD hath made all things for himself: yea, even the wicked for the day of evil. %%% Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku. 20PRO016.005 Every one that is proud in heart is an abomination to the LORD: though hand join in hand, he shall not be unpunished. %%% Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa. 20PRO016.006 By mercy and truth iniquity is purged: and by the fear of the LORD men depart from evil. %%% Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi. 20PRO016.007 When a man's ways please the LORD, he maketh even his enemies to be at peace with him. %%% Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Atabaganya naye era n'abalabe be. 20PRO016.008 Better is a little with righteousness than great revenues without right. %%% Akatono akaliko obutuukirivu Kakira amagoba mangi wamu n'ebitali bya nsonga. 20PRO016.009 A man's heart deviseth his way: but the LORD directeth his steps %%%9 Omutima gw'omuntu guteesa ekkubo lye: Naye Mukama ye aluŋŋamya ebigere bye. 20PRO016.010 A divine sentence is in the lips of the king: his mouth transgresseth not in judgment. %%% Obulaguzi buba mu mimwa gya kabaka: Akamwa ke tekalisobya mu kusala omusango. 20PRO016.011 A just weight and balance are the LORD's: all the weights of the bag are his work. %%% Ebigera n'eminzaani ebituufu biba bya Mukama: Ebipima byonna eby'omu nsawo mulimu gwe. 20PRO016.012 It is an abomination to kings to commit wickedness: for the throne is established by righteousness. %%% Okukola obubi kwa muzizo eri bakabaka: Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe. 20PRO016.013 Righteous lips are the delight of kings; and they love him that speaketh right. %%% Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'ensonga. 20PRO016.014 The wrath of a king is as messengers of death: but a wise man will pacify it. %%% Obusungu bwa kabaka babaka ba kufa: Naye omuntu ow'amagezi alibukkakkanya. 20PRO016.015 In the light of the king's countenance is life; and his favour is as a cloud of the latter rain. %%% Mu musana ogw'amaaso ga kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kire kya mu ttoggo. 20PRO016.016 How much better is it to get wisdom than gold! and to get understanding rather to be chosen than silver! %%% Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza. 20PRO016.017 The highway of the upright is to depart from evil: he that keepeth his way preserveth his soul. %%% Olugendo olw'abagolokofu kuleka bubi: Akuuma ekkubo lye awonya emmeeme ye. 20PRO016.018 Pride goeth before destruction, and an haughty spirit before a fall. %%% Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. 20PRO016.019 Better it is to be of an humble spirit with the lowly, than to divide the spoil with the proud. %%% Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala. 20PRO016.020 He that handleth a matter wisely shall find good: and whoso trusteth in the LORD, happy is he. %%% Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa. 20PRO016.021 The wise in heart shall be called prudent: and the sweetness of the lips increaseth learning. %%% Alina omutima ogw'amagezi banaamuyitanga mutegeevu: N'obuwoomerevu bw'emimwa bwongera okuyiga. 20PRO016.022 Understanding is a wellspring of life unto him that hath it: but the instruction of fools is folly. %%% Okutegeera luzzi lwa bulamu eri nnyini kwo: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe bwe bubabuulirira. 20PRO016.023 The heart of the wise teacheth his mouth, and addeth learning to his lips. %%% Omutima gw'ow'amagezi guyigiriza akamwa ke, Ne gwongera okuyiga ku mimwa gye. 20PRO016.024 Pleasant words are as an honeycomb, sweet to the soul, and health to the bones. %%% Ebigambo ebisanyusa bisenge bya njuki, Biwoomera emmeeme, era bwe bulamu eri amagumba. 20PRO016.025 There is a way that seemeth right unto a man, but the end thereof are the ways of death. %%% Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa. 20PRO016.026 He that laboureth laboureth for himself; for his mouth craveth it of him. %%% Omululu gw'omukozi gumukolera emirimu. Kubanga akamwa ke kamwegayirira. 20PRO016.027 An ungodly man diggeth up evil: and in his lips there is as a burning fire. %%% Omuntu ataliiko ky'agasa agunja ettima: Era mu mimwa gye mubaamu omuliro ogusonsomola. 20PRO016.028 A froward man soweth strife: and a whisperer separateth chief friends. %%% Omuntu omubambaavu asiga empaka: Era omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo. 20PRO016.029 A violent man enticeth his neighbour, and leadeth him into the way that is not good. %%% Omuntu ow'ekyejo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi. 20PRO016.030 He shutteth his eyes to devise froward things: moving his lips he bringeth evil to pass. %%% Aziba amaaso, kwe kuteesa ebigambo eby'obubambaavu: Aluma emimwa atuukiriza obubi. 20PRO016.031 The hoary head is a crown of glory, if it be found in the way of righteousness. %%% Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, Gunaalabikanga mu kkubo ery'obutuukirivu. 20PRO016.032 He that is slow to anger is better than the mighty; and he that ruleth his spirit than he that taketh a city. %%% Alwawo okusunguwala asinga ab'amaanyi; N'afuga omwoyo gwe akira amenya ekibuga. 20PRO016.033 The lot is cast into the lap; but the whole disposing thereof is of the LORD. %%% Akalulu kasuulibwa mu lugoye olw'omu kifuba; Naye okulagira kwako kwonna kuva eri Mukama. 20PRO017.001 Better is a dry morsel, and quietness therewith, than an house full of sacrifices with strife. %%% Akamere akaluma awamu n'obutereevu Kakira ennyumba ejjudde embaga omuli okuyomba. 20PRO017.002 A wise servant shall have rule over a son that causeth shame, and shall have part of the inheritance among the brethren. %%% Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akwasa ensonyi, Era aliba n'omugabo ogw'obusika mu b'oluganda. 20PRO017.003 The fining pot is for silver, and the furnace for gold: but the LORD trieth the hearts. %%% Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu: Naye Mukama ye akema emitima. 20PRO017.004 A wicked doer giveth heed to false lips; and a liar giveth ear to a naughty tongue. %%% Akola obubi assaayo omwoyo eri emimwa emibi; N'omulimba awulira olulimi olw'ettima. 20PRO017.005 Whoso mocketh the poor reproacheth his Maker: and he that is glad at calamities shall not be unpunished. %%% Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we: N'oyo asanyukira obuyinike taliwona kubonerezebwa. 20PRO017.006 Children's children are the crown of old men; and the glory of children are their fathers. %%% Abaana b'abaana ngule ya bakadde; N'abaana ekitiibwa kyabwe bakitaabwe. 20PRO017.007 Excellent speech becometh not a fool: much less do lying lips a prince. %%% Okwogera ebikulu tekusaanira musirusiru: Kale emimwa egirimba gisaanira gitya omulangira? 20PRO017.008 A gift is as a precious stone in the eyes of him that hath it: whithersoever it turneth, it prospereth. %%% Ekirabo jjinja lya muwendo mungi mu maaso g'oyo ali nakyo: Gye kikyukira yonna kiraba omukisa. 20PRO017.009 He that covereth a transgression seeketh love; but he that repeateth a matter separateth very friends. %%% Abikka ku kusobya anoonya okwagala: Naye ayeeyereza ekigambo akyayisa ab'omukwano ennyo. 20PRO017.010 A reproof entereth more into a wise man than an hundred stripes into a fool. %%% Okunenya kuyingira nnyo mu nnyini kutegeera Okusinga emiggo kikumi bwe giyingira mu musirisuru. 20PRO017.011 An evil man seeketh only rebellion: therefore a cruel messenger shall be sent against him. %%% Omuntu omubi anoonya bujeemu bwereere; Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata. 20PRO017.012 Let a bear robbed of her whelps meet a man, rather than a fool in his folly. %%% Eddubu enyagiddwako abaana baayo esisinkane n'omuntu, Aleme okusisinkana n'omusirusiru mu busirusiru bwe. 20PRO017.013 Whoso rewardeth evil for good, evil shall not depart from his house. %%% Asasula obubi olw'obulungi, Obubi tebuliva ku nnyumba ye. 20PRO017.014 The beginning of strife is as when one letteth out water: therefore leave off contention, before it be meddled with. %%% Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba. 20PRO017.015 He that justifieth the wicked, and he that condemneth the just, even they both are abomination to the LORD. %%% Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga, Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama. 20PRO017.016 Wherefore is there a price in the hand of a fool to get wisdom, seeing he hath no heart to it? %%% Kiki ekibeesaawo omuwendo mu mukono gw'omusirusiru okugula amagezi, Nga talina kutegeera? 20PRO017.017 A friend loveth at all times, and a brother is born for adversity. %%% Ow'omukwano ayagala mu biro byonna, Era ow'oluganda yazaalirwa obuyinike. 20PRO017.018 A man void of understanding striketh hands, and becometh surety in the presence of his friend. %%% Omuntu abulwa okutegeera akuba mu ngalo, N'afuuka omuyima mu maaso ga munne. 20PRO017.019 He loveth transgression that loveth strife: and he that exalteth his gate seeketh destruction. %%% Ayagala okuyomba ayagala okusobya: Agulumiza ennyo omulyango gwe anoonya okuzikirira. 20PRO017.020 He that hath a froward heart findeth no good: and he that hath a perverse tongue falleth into mischief. %%% Alina omutima omubambaavu taliiko bulungi bw'alaba: N'oyo alina olulimi olukyamu agwa mu bubi. 20PRO017.021 He that begetteth a fool doeth it to his sorrow: and the father of a fool hath no joy. %%% Azaala omusirusiru yeereetako obuyinike: Era kitaawe w'omusirusiru talina ssanyu. 20PRO017.022 A merry heart doeth good like a medicine: but a broken spirit drieth the bones. %%% Omutima ogujaguza ddagala ddungi: Naye omwoyo ogumenyese gukaza amagumba. 20PRO017.023 A wicked man taketh a gift out of the bosom to pervert the ways of judgment. %%% Omuntu omubi aggya enguzi mu kifuba, Okukyamya amakubo ag'okusala omusango. 20PRO017.024 Wisdom is before him that hath understanding; but the eyes of a fool are in the ends of the earth. %%% Amagezi gaba mu maaso g'oyo alina okutegeera: Naye amaaso g'omusirusiru gaba mu njuyi z'ensi ezikomererayo. 20PRO017.025 A foolish son is a grief to his father, and bitterness to her that bare him. %%% Omwana omusirusiru buyinike bwa kitaawe, Era bubalagaze bwa mukazi eyamuzaala. 20PRO017.026 Also to punish the just is not good, nor to strike princes for equity. %%% Era okubonereza omutuukirivu si kulungi, Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe, 20PRO017.027 He that hath knowledge spareth his words: and a man of understanding is of an excellent spirit. %%% Aziyiza ebigambo bye alina okumanya: N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu. 20PRO017.028 Even a fool, when he holdeth his peace, is counted wise: and he that shutteth his lips is esteemed a man of understanding. %%% Era n'omusirusiru bw'asirika bamuyita wa magezi: Bw'abuniza emimwa gye bamulowooza nga mutegeevu. 20PRO018.001 Through desire a man, having separated himself, seeketh and intermeddleth with all wisdom. %%% Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, Era alalukira amagezi gonna amatuufu. 20PRO018.002 A fool hath no delight in understanding, but that his heart may discover itself. %%% Omusirusiru tasanyukira kutegeera, Naye omutima gwe gwebikkule bwebikkuzi. 20PRO018.003 When the wicked cometh, then cometh also contempt, and with ignominy reproach. %%% Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa. 20PRO018.004 The words of a man's mouth are as deep waters, and the wellspring of wisdom as a flowing brook. %%% Ebigambo eby'omukamwa k'omuntu mazzi ga buziba: Oluzzi olw'amagezi mugga ogukulukuta. 20PRO018.005 It is not good to accept the person of the wicked, to overthrow the righteous in judgment. %%% Okukkiriza amaaso g'omubi si kulungi, Newakubadde okugoba omutuukirivu bw'awoza. 20PRO018.006 A fool's lips enter into contention, and his mouth calleth for strokes. %%% Emimwa gy'omusirusiru giyingira mu nnyombo, Akamwa ke ne kasaba emiggo. 20PRO018.007 A fool's mouth is his destruction, and his lips are the snare of his soul. %%% Akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira kwe, N'emimwa gye kye kyambika eky'emmeeme ye. 20PRO018.008 The words of a talebearer are as wounds, and they go down into the innermost parts of the belly. %%% Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto. 20PRO018.009 He also that is slothful in his work is brother to him that is a great waster. %%% Era n'oyo atenguwa ng'akola emirimu Ye muganda w'oyo azikiriza. 20PRO018.010 The name of the LORD is a strong tower: the righteous runneth into it, and is safe. %%% Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe. 20PRO018.011 The rich man's wealth is his strong city, and as an high wall in his own conceit. %%% Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky'amaanyi, Era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye. 20PRO018.012 Before destruction the heart of man is haughty, and before honour is humility. %%% Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw'omuntu gwegulumiza, Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa. 20PRO018.013 He that answereth a matter before he heareth it, it is folly and shame unto him. %%% Addamu nga tannawulira, Busirusiru n'ensonyi gy'ali. 20PRO018.014 The spirit of a man will sustain his infirmity; but a wounded spirit who can bear? %%% Omwoyo gw'omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe; Naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza? 20PRO018.015 The heart of the prudent getteth knowledge; and the ear of the wise seeketh knowledge. %%% Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya. 20PRO018.016 A man's gift maketh room for him, and bringeth him before great men. %%% Ekirabo eky'omuntu kimuseguliza, Era kimutuusa mu maaso g'abakulu. 20PRO018.017 He that is first in his own cause seemeth just; but his neighbour cometh and searcheth him. %%% Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuukirivu; Naye munne n'ajja n'amukebera. 20PRO018.018 The lot causeth contentions to cease, and parteth between the mighty. %%% Akalulu kalekesaayo ennyombo, Era kalamula ab'amaanyi. 20PRO018.019 A brother offended is harder to be won than a strong city: and their contentions are like the bars of a castle. %%% Ow'oluganda anyiize kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky'amaanyi: Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo. 20PRO018.020 A man's belly shall be satisfied with the fruit of his mouth; and with the increase of his lips shall he be filled. %%% Olubuto lw'omuntu lulikkuta ebibala eby'akamwa ke; Ekyengera eky'omu mimwa gye kirimumala. 20PRO018.021 Death and life are in the power of the tongue: and they that love it shall eat the fruit thereof. %%% Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo. 20PRO018.022 Whoso findeth a wife findeth a good thing, and obtaineth favour of the LORD. %%% Alaba omukazi okumufumbirwa alaba ekirungi, Era afuna okuganja eri Mukama. 20PRO018.023 The poor useth intreaties; but the rich answereth roughly. %%% Omwavu yeegayirira: Naye omugagga addamu n'ebboggo. 20PRO018.024 A man that hath friends must shew himself friendly: and there is a friend that sticketh closer than a brother. %%% Akwana emikwano emingi yeereetako okuzikirira: Naye waliwo ow'omukwano eyeegatta ennyo okusinga ow'oluganda. 20PRO019.001 Better is the poor that walketh in his integrity, than he that is perverse in his lips, and is a fool. %%% Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira ow'emimwa emikyamu era omusirusiru. 20PRO019.002 Also, that the soul be without knowledge, it is not good; and he that hasteth with his feet sinneth. %%% Era emmeeme obutaba na kumanya si kirungi; N'oyo ayanguyiriza n'ebigere bye ayonoona. 20PRO019.003 The foolishness of man perverteth his way: and his heart fretteth against the LORD. %%% Obusirusiru bw'omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; N'omutima gwe gunyiigira Mukama. 20PRO019.004 Wealth maketh many friends; but the poor is separated from his neighbour. %%% Obugagga bwongera emikwano mingi: Naye omwavu akyawagana ne mukwano gwe. 20PRO019.005 A false witness shall not be unpunished, and he that speaketh lies shall not escape. %%% Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; N'oyo ayogera eby'okudyeka talirokoka. 20PRO019.006 Many will intreat the favour of the prince: and every man is a friend to him that giveth gifts. %%% Bangi abalimusaba omugabagabanyi obuganzi: Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo. 20PRO019.007 All the brethren of the poor do hate him: how much more do his friends go far from him? he pursueth them with words, yet they are wanting to him. %%% Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Abayigganya n'ebigambo, naye nga bagenze. 20PRO019.008 He that getteth wisdom loveth his own soul: he that keepeth understanding shall find good. %%% Afuna amagezi ayagala emmeeme ye: Anyweza okutegeera aliraba ebirungi. 20PRO019.009 A false witness shall not be unpunished, and he that speaketh lies shall perish. %%% Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; Naye ayogera eby'obulimba alizikirira. 20PRO019.010 Delight is not seemly for a fool; much less for a servant to have rule over princes. %%% Okwekanasa tekusaanira musirusiru; Kale omuddu okufuga abalangira kusaana kutya? 20PRO019.011 The discretion of a man deferreth his anger; and it is his glory to pass over a transgression. %%% Okuteesa kw'omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; Era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye. 20PRO019.012 The king's wrath is as the roaring of a lion; but his favour is as dew upon the grass. %%% Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye obuganzi bwe musulo ku ssubi. 20PRO019.013 A foolish son is the calamity of his father: and the contentions of a wife are a continual dropping. %%% Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi kwe kutonnya olutata. 20PRO019.014 House and riches are the inheritance of fathers: and a prudent wife is from the LORD. %%% Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama. 20PRO019.015 Slothfulness casteth into a deep sleep; and an idle soul shall suffer hunger. %%% Obugayaavu buleeta otulo tungi; N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala. 20PRO019.016 He that keepeth the commandment keepeth his own soul; but he that despiseth his ways shall die. %%% Akuuma ekiragiro akuuma emmeeme ye: Naye atassaayo mwoyo eri amakubo ge alifa. 20PRO019.017 He that hath pity upon the poor lendeth unto the LORD; and that which he hath given will he pay him again. %%% Asaasira omwavu awola Mukama, Era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi. 20PRO019.018 Chasten thy son while there is hope, and let not thy soul spare for his crying. %%% Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe. 20PRO019.019 A man of great wrath shall suffer punishment: for if thou deliver him, yet thou must do it again. %%% Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa: Kubanga bw'olimuwonya kirigwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogw'okubiri. 20PRO019.020 Hear counsel, and receive instruction, that thou mayest be wise in thy latter end. %%% Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa, Obeere n'amagezi enkomerero yo ng'etuuse. 20PRO019.021 There are many devices in a man's heart; nevertheless the counsel of the LORD, that shall stand. %%% Mu mutima gw'omuntu mulimu okufumiitiriza kungi; Naye okuteesa kwa Mukama kwe kunaanyweranga. 20PRO019.022 The desire of a man is his kindness: and a poor man is better than a liar. %%% Omuntu ekimwagaza kisa kye: N'omwavu akira omulimba. 20PRO019.023 The fear of the LORD tendeth to life: and he that hath it shall abide satisfied; he shall not be visited with evil. %%% Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi. 20PRO019.024 A slothful man hideth his hand in his bosom, and will not so much as bring it to his mouth again. %%% Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, So tayagala na kuguzza nate ku kamwa ke. 20PRO019.025 Smite a scorner, and the simple will beware: and reprove one that hath understanding, and he will understand knowledge. %%% Kuba omunyoomi, atalina magezi anaayiga obutegeevu: Era buulirira alina okutegeera; era anaategeera okumanya. 20PRO019.026 He that wasteth his father, and chaseth away his mother, is a son that causeth shame, and bringeth reproach. %%% Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume. 20PRO019.027 Cease, my son, to hear the instruction that causeth to err from the words of knowledge. %%% Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami okuva mu bigambo eby'okumanya. 20PRO019.028 An ungodly witness scorneth judgment: and the mouth of the wicked devoureth iniquity. %%% Omujulirwa ataaliiko ky'agasa akudaalira omusango: N'akamwa k'ababi kamira obutali butuukirivu. 20PRO019.029 Judgments are prepared for scorners, and stripes for the back of fools. %%% Emisango gyategekerwa abanyoomi, N'emiggo gyategekerwa amabega g'abasirusiru. 20PRO020.001 Wine is a mocker, strong drink is raging: and whosoever is deceived thereby is not wise. %%% Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli akyama olw'ebyo talina magezi. 20PRO020.002 The fear of a king is as the roaring of a lion: whoso provoketh him to anger sinneth against his own soul. %%% Entiisa ya kabaka kuwuluguma kwa mpologoma: Amusunguwaza ayonoona obulamu bwe ye. 20PRO020.003 It is an honour for a man to cease from strife: but every fool will be meddling. %%% Omuntu eyeewala ennyombo yeefunira ekitiibwa: Naye buli musirusiru ayagala okuyombanga. 20PRO020.004 The sluggard will not plow by reason of the cold; therefore shall he beg in harvest, and have nothing. %%% Omugayaavu taganya kulima olwa ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu. 20PRO020.005 Counsel in the heart of man is like deep water; but a man of understanding will draw it out. %%% Okuteesa okw'omu mutima gw'omuntu kuli ng'amazzi ag'omu luzzi oluwanvu; Naye omuntu alina okutegeera alikusena. 20PRO020.006 Most men will proclaim every one his own goodness: but a faithful man who can find? %%% Abantu bangi abalirangira buli muntu ekisa kye ye: Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba? 20PRO020.007 The just man walketh in his integrity: his children are blessed after him. %%% Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa. 20PRO020.008 A king that sitteth in the throne of judgment scattereth away all evil with his eyes. %%% Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Asaasaanya obubi bwonna n'amaaso ge. 20PRO020.009 Who can say, I have made my heart clean, I am pure from my sin? %%% Ani ayinza okwogera nti Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu mu kwonoona kwange? 20PRO020.010 Divers weights, and divers measures, both of them are alike abomination to the LORD. %%% Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama. 20PRO020.011 Even a child is known by his doings, whether his work be pure, and whether it be right. %%% Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Omulimu gwe oba nga mulongoofu, oba nga mulungi. 20PRO020.012 The hearing ear, and the seeing eye, the LORD hath made even both of them. %%% Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Mukama ye yakola byombi. 20PRO020.013 Love not sleep, lest thou come to poverty; open thine eyes, and thou shalt be satisfied with bread. %%% Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Zibulanga amaaso go, onokkutanga emmere. 20PRO020.014 It is naught, it is naught, saith the buyer: but when he is gone his way, then he boasteth. %%% Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa, bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugenda n'alyoka yeenyumiriza. 20PRO020.015 There is gold, and a multitude of rubies: but the lips of knowledge are a precious jewel. %%% Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'okumanya kya buyonjo kya muwendo mungi. 20PRO020.016 Take his garment that is surety for a stranger: and take a pledge of him for a strange woman. %%% Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi. 20PRO020.017 Bread of deceit is sweet to a man; but afterwards his mouth shall be filled with gravel. %%% Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu. 20PRO020.018 Every purpose is established by counsel: and with good advice make war. %%% Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era tabaalanga n'okukulemberwa okw'amagezi. 20PRO020.019 He that goeth about as a talebearer revealeth secrets: therefore meddle not with him that flattereth with his lips. %%% Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Kale teweetabulanga n'oyo ayasama ennyo emimwa gye. 20PRO020.020 Whoso curseth his father or his mother, his lamp shall be put out in obscure darkness. %%% Akolimira kitaawe oba nnyina, Ettabaaza ye erizikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi. 20PRO020.021 An inheritance may be gotten hastily at the beginning; but the end thereof shall not be blessed. %%% Obusika buyinzika okufunibwa amangu olubereberye; Naye enkomerero yaabwo teriba na mukisa. 20PRO020.022 Say not thou, I will recompense evil; but wait on the LORD, and he shall save thee. %%% Toyogeranga nti Ndisasula obubi: Lindiriranga Mukama naye anaakuwonyanga. 20PRO020.023 Divers weights are an abomination unto the LORD; and a false balance is not good. %%% Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi. 20PRO020.024 Man's goings are of the LORD; how can a man then understand his own way? %%% Amagenda g'omuntu gava eri Mukama; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye? 20PRO020.025 It is a snare to the man who devoureth that which is holy, and after vows to make enquiry. %%% Kyambika eri omuntu, okwogera ng'ayanguyiriza nti Kitukuvu, Awo ng'amaze okweyama n'alyoka abuuza. 20PRO020.026 A wise king scattereth the wicked, and bringeth the wheel over them. %%% Kabaka ow'amagezi awewa ababi, Era abaleetako nnamuziga ewuula. 20PRO020.027 The spirit of man is the candle of the LORD, searching all the inward parts of the belly. %%% Omwoyo gw'omuntu ye ttabaaza ya Mukama, Ekebera ebitundu byonna eby'olubuto eby'omunda. 20PRO020.028 Mercy and truth preserve the king: and his throne is upholden by mercy. %%% Okusaasira n'amazima biwonya kabaka: Era okusaasira kwe kuwanirira entebe ye. 20PRO020.029 The glory of young men is their strength: and the beauty of old men is the grey head. %%% Abalenzi ekitiibwa kyabwe maanyi gaabwe: N'abakadde omutwe oguliko envi bwe bulungi bwabwe. 20PRO020.030 The blueness of a wound cleanseth away evil: so do stripes the inward parts of the belly. %%% Emiggo egiruma gimalawo obubi: N'enga zituuka mu bitundu eby'olubuto eby'omunda. 20PRO021.001 The king's heart is in the hand of the LORD, as the rivers of water: he turneth it whithersoever he will. %%% Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa gy'ayagala yonna. 20PRO021.002 Every way of a man is right in his own eyes: but the LORD pondereth the hearts. %%% Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye: Naye Mukama ye apima emitima. 20PRO021.003 To do justice and judgment is more acceptable to the LORD than sacrifice. %%% Okukola eby'ensonga n'eby'omusango Kukkirizibwa Mukama okusinga ssaddaaka. 20PRO021.004 An high look, and a proud heart, and the plowing of the wicked, is sin. %%% Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala, Ye ttabaaza ey'ababi, kwe kwonoona. 20PRO021.005 The thoughts of the diligent tend only to plenteousness; but of every one that is hasty only to want. %%% Ebirowoozo eby'omunyiikivu bireeta bungi bwereere Naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi. 20PRO021.006 The getting of treasures by a lying tongue is a vanity tossed to and fro of them that seek death. %%% Okufuna obugagga n'olulimi olulimba Mukka ogutwalibwa eruuyi n'eruuyi; ababunoonya banoonya okufa. 20PRO021.007 The robbery of the wicked shall destroy them; because they refuse to do judgment. %%% Ekyejo eky'ababi kiribamalawo; Kubanga bagaana okukola eby'ensonga. 20PRO021.008 The way of man is froward and strange: but as for the pure, his work is right. %%% Ekkubo ly'oyo eyeebinise omusango likyamakyama nnyo nnyini: Naye omulongoofu omulimu gwe mulungi. 20PRO021.009 It is better to dwell in a corner of the housetop, than with a brawling woman in a wide house. %%% Beeranga ku nnyumba waggulu awafunda Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi. 20PRO021.010 The soul of the wicked desireth evil: his neighbour findeth no favour in his eyes. %%% Emmeeme y'omubi yeegomba obubi: Munne taganja n'akamu mu maaso ge. 20PRO021.011 When the scorner is punished, the simple is made wise: and when the wise is instructed, he receiveth knowledge. %%% Omunyoomi bw'abonerezebwa, atalina magezi agafuna: Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa aweebwa okumanya. 20PRO021.012 The righteous man wisely considereth the house of the wicked: but God overthroweth the wicked for their wickedness. %%% Omuntu omutuukirivu alowooza ennyumba ey'omubi; Ababi bwe basuulibwa ne babula. 20PRO021.013 Whoso stoppeth his ears at the cry of the poor, he also shall cry himself, but shall not be heard. %%% Aziba amatu ge omwavu bw'akaaba, Era naye alikaaba, naye taliwulirwa. 20PRO021.014 A gift in secret pacifieth anger: and a reward in the bosom strong wrath. %%% Ekirabo eky'omu kyama kikkakkanya obusungu, N'ekitone eky'omu kifuba kikkakkanya ekiruyi ekingi. 20PRO021.015 It is joy to the just to do judgment: but destruction shall be to the workers of iniquity. %%% Okukolanga eby'ensonga ssanyu lya mutuukirivu. Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu. 20PRO021.016 The man that wandereth out of the way of understanding shall remain in the congregation of the dead. %%% Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu. 20PRO021.017 He that loveth pleasure shall be a poor man: he that loveth wine and oil shall not be rich. %%% Ayagala essanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'amafuta taabenga mugagga. 20PRO021.018 The wicked shall be a ransom for the righteous, and the transgressor for the upright. %%% Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu; N'oyo asala enkwe adda mu kifo ky'abagolokofu. 20PRO021.019 It is better to dwell in the wilderness, than with a contentious and an angry woman. %%% Beeranga mu nsi ey'eddungu Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi anyiiganyiiga. 20PRO021.020 There is treasure to be desired and oil in the dwelling of the wise; but a foolish man spendeth it up. %%% Mu nnyumba ey'omutuukirivu mulimu obugagga obw'omuwendo omungi n'amafuta; Naye omusirusiru abumira. 20PRO021.021 He that followeth after righteousness and mercy findeth life, righteousness, and honour. %%% Agoberera obutuukirivu n'okusaasira Alaba obulamu n'obutuukirivu n'ekitiibwa. 20PRO021.022 A wise man scaleth the city of the mighty, and casteth down the strength of the confidence thereof. %%% Omuntu ow'amagezi alinnya mu kibuga eky'ab'amaanyi, N'akkakkanya amaanyi ag'obugumu bwakyo. 20PRO021.023 Whoso keepeth his mouth and his tongue keepeth his soul from troubles. %%% Buli akuuma akamwa ke n'olulimi lwe Akuuma emmeeme ye obutalaba nnaku. 20PRO021.024 Proud and haughty scorner is his name, who dealeth in proud wrath. %%% Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, erinnya lye munyoomi, Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala. 20PRO021.025 The desire of the slothful killeth him; for his hands refuse to labour. %%% Okwegomba okw'omugayaavu kumutta; Kubanga emikono gye gigaana okukola emirimu. 20PRO021.026 He coveteth greedily all the day long: but the righteous giveth and spareth not. %%% Wabaawo ayaayaana ennyo okuzibya obudde: Naye omutuukirivu awa n'atamma. 20PRO021.027 The sacrifice of the wicked is abomination: how much more, when he bringeth it with a wicked mind? %%% Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Bw'agireeta n'emmeeme embi, tesinga nnyo kuba ya muzizo? 20PRO021.028 A false witness shall perish: but the man that heareth speaketh constantly. %%% Omujulirwa ow'obulimba anaabulanga: Naye omuntu awulira anaayogeranga nga tewali amulimbulula. 20PRO021.029 A wicked man hardeneth his face: but as for the upright, he directeth his way. %%% Omuntu omubi akakanyaza amaaso ge: Naye omugolokofu aliraanya amakubo ge. 20PRO021.030 There is no wisdom nor understanding nor counsel against the LORD. %%% Tewali magezi newakubadde okutegeera Newakubadde okuteesa ku Mukama. 20PRO021.031 The horse is prepared against the day of battle: but safety is of the LORD. %%% Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo. Naye okuwangula kuva eri Mukama. 20PRO022.001 A GOOD name is rather to be chosen than great riches, and loving favour rather than silver and gold. %%% Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi, N'okuganja n'okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu. 20PRO022.002 The rich and poor meet together: the LORD is the maker of them all. %%% Omugagga n'omwavu baalabagana: Mukama ye yabatonda bonna. 20PRO022.003 A prudent man foreseeth the evil, and hideth himself: but the simple pass on, and are punished. %%% Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa. 20PRO022.004 By humility and the fear of the LORD are riches, and honour, and life. %%% Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama. 20PRO022.005 Thorns and snares are in the way of the froward: he that doth keep his soul shall be far from them. %%% Amaggwa n'ebyambika biri mu kkubo ery'omubambaavu: Akuuma emmeeme ye alibibeera wala. 20PRO022.006 Train up a child in the way he should go: and when he is old, he will not depart from it. %%% Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu. 20PRO022.007 The rich ruleth over the poor, and the borrower is servant to the lender. %%% Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola. 20PRO022.008 He that soweth iniquity shall reap vanity: and the rod of his anger shall fail. %%% Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo. 20PRO022.009 He that hath a bountiful eye shall be blessed; for he giveth of his bread to the poor. %%% Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye. 20PRO022.010 Cast out the scorner, and contention shall go out; yea, strife and reproach shall cease. %%% Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Weewaawo, okuwakana n'okuswazibwa birikoma. 20PRO022.011 He that loveth pureness of heart, for the grace of his lips the king shall be his friend. %%% Ayagala omutima omulongoofu, Olw'ekisa eky'omu mimwa gye kabaka kyanaavanga abeera mukwano gwe. 20PRO022.012 The eyes of the LORD preserve knowledge, and he overthroweth the words of the transgressor. %%% Amaaso ga Mukama gakuuma oyo alina okumanya, Naye asuula ebigambo eby'omuntu asala enkwe. 20PRO022.013 The slothful man saith, There is a lion without, I shall be slain in the streets. %%% Omugayaavu ayogera nti Empologoma eri bweru: N'attirwa mu nguudo. 20PRO022.014 The mouth of strange women is a deep pit: he that is abhorred of the LORD shall fall therein. %%% Akamwa k'abakazi abagenyi bunnya buwanvu: Akyayibwa Mukama aligwa omwo. 20PRO022.015 Foolishness is bound in the heart of a child; but the rod of correction shall drive it far from him. %%% Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali. 20PRO022.016 He that oppresseth the poor to increase his riches, and he that giveth to the rich, shall surely come to want. %%% Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi. 20PRO022.017 Bow down thine ear, and hear the words of the wise, and apply thine heart unto my knowledge. %%% Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange. 20PRO022.018 For it is a pleasant thing if thou keep them within thee; they shall withal be fitted in thy lips. %%% Kubanga kigambo kya ssanyu bw'obeera nabyo mu nda yo, Bwe binywerera wamu ku mimwa gyo. 20PRO022.019 That thy trust may be in the LORD, I have made known to thee this day, even to thee. %%% Obwesige bwo bube eri Mukama, Kyenvudde nkubimanyisa leero ggwe. 20PRO022.020 Have not I written to thee excellent things in counsels and knowledge, %%% Sikuwandiikidde birungi nnyo nnyini Eby'okuteesa n'eby'okumanya; 20PRO022.021 That I might make thee know the certainty of the words of truth; that thou mightest answer the words of truth to them that send unto thee? %%% Okukutegeeza ebigambo eby'amazima bwe bitabuusibwabuusibwa, Olyoke obaddize ebigambo eby'amazima abo abakutuma? 20PRO022.022 Rob not the poor, because he is poor: neither oppress the afflicted in the gate: %%% Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango: 20PRO022.023 For the LORD will plead their cause, and spoil the soul of those that spoiled them. %%% Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu. 20PRO022.024 Make no friendship with an angry man; and with a furious man thou shalt not go: %%% Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi: 20PRO022.025 Lest thou learn his ways, and get a snare to thy soul. %%% Olemenga okuyiga amakubo ge, N'ofunira emmeeme yo ekyambika. 20PRO022.026 Be not thou one of them that strike hands, or of them that are sureties for debts. %%% Tobanga ku muwendo gw'abo abakuba mu ngalo, Newakubadde ogw'abo abeeyimirira amabanja: 20PRO022.027 If thou hast nothing to pay, why should he take away thy bed from under thee? %%% Oba nga tolina kya kusasula, Lwaki akuggirawo ekitanda kyo wansi wo? 20PRO022.028 Remove not the ancient landmark, which thy fathers have set. %%% Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba. 20PRO022.029 Seest thou a man diligent in his business? he shall stand before kings; he shall not stand before mean men. %%% Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso ga bakopi. 20PRO023.001 When thou sittest to eat with a ruler, consider diligently what is before thee: %%% Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Olowoolezanga ddala oyo ali mu maaso go; 20PRO023.002 And put a knife to thy throat, if thou be a man given to appetite. %%% Era weeteekenga akambe ku bulago bwo, Oba nga oli muntu muluvu. 20PRO023.003 Be not desirous of his dainties: for they are deceitful meat. %%% Teweegombanga nva ze ennungi; Kubanga bye byokulya eby'obulimba. 20PRO023.004 Labour not to be rich: cease from thine own wisdom. %%% Teweekooyanga okuba omugagga; Vanga ku magezi go ggwe. 20PRO023.005 Wilt thou set thine eyes upon that which is not? for riches certainly make themselves wings; they fly away as an eagle toward heaven. %%% Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ebuuka mu bbanga. 20PRO023.006 Eat thou not the bread of him that hath an evil eye, neither desire thou his dainty meats: %%% Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So teweegombanga nva ze nnungi: 20PRO023.007 For as he thinketh in his heart, so is he: Eat and drink, saith he to thee; but his heart is not with thee. %%% Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe. 20PRO023.008 The morsel which thou hast eaten shalt thou vomit up, and lose thy sweet words. %%% Ennoga gy'olidde onoogisesema, N'ofiirwa ebigambo byo ebirungi. 20PRO023.009 Speak not in the ears of a fool: for he will despise the wisdom of thy words. %%% Toyogeranga omusirusiru ng'awulira; Kubanga anaanyooma amagezi ag'ebigambo byo. 20PRO023.010 Remove not the old landmark; and enter not into the fields of the fatherless: %%% Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga mu nnimiro ez'abatalina bakitaabwe: 20PRO023.011 For their redeemer is mighty; he shall plead their cause with thee. %%% Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe. 20PRO023.012 Apply thine heart unto instruction, and thine ears to the words of knowledge. %%% Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya. 20PRO023.013 Withhold not correction from the child: for if thou beatest him with the rod, he shall not die. %%% Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa. 20PRO023.014 Thou shalt beat him with the rod, and shalt deliver his soul from hell. %%% Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe. 20PRO023.015 My son, if thine heart be wise, my heart shall rejoice, even mine. %%% Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi, Omutima gwange gunaasanyuka, ogwange: 20PRO023.016 Yea, my reins shall rejoice, when thy lips speak right things. %%% Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Emimwa gyo bwe gyogera eby'ensonga. 20PRO023.017 Let not thine heart envy sinners: but be thou in the fear of the LORD all the day long. %%% Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde: 20PRO023.018 For surely there is an end; and thine expectation shall not be cut off. %%% Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo. 20PRO023.019 Hear thou, my son, and be wise, and guide thine heart in the way. %%% Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo. 20PRO023.020 Be not among winebibbers; among riotous eaters of flesh: %%% Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Mu abo abeevuubiika ennyama: 20PRO023.021 For the drunkard and the glutton shall come to poverty: and drowsiness shall clothe a man with rags. %%% Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina. 20PRO023.022 Hearken unto thy father that begat thee, and despise not thy mother when she is old. %%% Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye. 20PRO023.023 Buy the truth, and sell it not; also wisdom, and instruction, and understanding. %%% Gulanga amazima, so togatundanga; Weewaawo, amagezi n'okuyigirizibwa n'okutegeera. 20PRO023.024 The father of the righteous shall greatly rejoice: and he that begetteth a wise child shall have joy of him. %%% Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaabanga n'essanyu. 20PRO023.025 Thy father and thy mother shall be glad, and she that bare thee shall rejoice. %%% Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, N'omukazi eyakuzaala ajaguzenga. 20PRO023.026 My son, give me thine heart, and let thine eyes observe my ways. %%% Mwana wange, mpa omutima gwo, N'amaaso go gasanyukirenga amakubo gange. 20PRO023.027 For a whore is a deep ditch; and a strange woman is a narrow pit. %%% Kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu; N'omukazi omugenyi bunnya bwa kanyigo. 20PRO023.028 She also lieth in wait as for a prey, and increaseth the transgressors among men. %%% Weewaawo; ateega ng'omunyazi, Era ayaza abasala enkwe mu bantu. 20PRO023.029 Who hath woe? who hath sorrow? who hath contentions? who hath babbling? who hath wounds without cause? who hath redness of eyes? %%% Ani alaba obuyinike? ani alaba ennaku? ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyusa amaaso? 20PRO023.030 They that tarry long at the wine; they that go to seek mixed wine. %%% Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge omutabule. 20PRO023.031 Look not thou upon the wine when it is red, when it giveth his colour in the cup, when it moveth itself aright. %%% Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola: 20PRO023.032 At the last it biteth like a serpent, and stingeth like an adder. %%% Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa. 20PRO023.033 Thine eyes shall behold strange women, and thine heart shall utter perverse things. %%% Amaaso go galiraba eby'ekitalo, N'omutima gwo gulyogera ebigambo eby'obubambaavu. 20PRO023.034 Yea, thou shalt be as he that lieth down in the midst of the sea, or as he that lieth upon the top of a mast. %%% Weewaawo, oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti. 20PRO023.035 They have stricken me, shalt thou say, and I was not sick; they have beaten me, and I felt it not: when shall I awake? I will seek it yet again. %%% Bankubye, bw'olyogera bw'otyo, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Ndyebaka ddi? naagunoonya nate omulundi ogw'okubiri. 20PRO024.001 Be not thou envious against evil men, neither desire to be with them. %%% Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga okuba awamu nabo: 20PRO024.002 For their heart studieth destruction, and their lips talk of mischief. %%% Kubanga omutima gwabwe guteesa okujooga, N'emimwa gyabwe gyogera ku ttima. 20PRO024.003 Through wisdom is an house builded; and by understanding it is established: %%% Amagezi ge gazimbya ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza: 20PRO024.004 And by knowledge shall the chambers be filled with all precious and pleasant riches. %%% N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa. 20PRO024.005 A wise man is strong; yea, a man of knowledge increaseth strength. %%% Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya ayongera obuyinza. 20PRO024.006 For by wise counsel thou shalt make thy war: and in multitude of counsellors there is safety. %%% Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe. 20PRO024.007 Wisdom is too high for a fool: he openeth not his mouth in the gate. %%% Amagezi magulumivu nnyo, galema omusirusiru: Tayasama kamwa ke mu mulyango. 20PRO024.008 He that deviseth to do evil shall be called a mischievous person. %%% Agunja okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima. 20PRO024.009 The thought of foolishness is sin: and the scorner is an abomination to men. %%% Okulowooza kw'omusirusiru kwonoona: Era omunyoomi wa muzizo eri abantu. 20PRO024.010 If thou faint in the day of adversity, thy strength is small. %%% Bw'ozirika ku lunaku olw'okulabirako obuyinike, Amaanyi go nga matono. 20PRO024.011 If thou forbear to deliver them that are drawn unto death, and those that are ready to be slain; %%% Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa, N'abo abagenda okuttibwa obalekanga. 20PRO024.012 If thou sayest, Behold, we knew it not; doth not he that pondereth the heart consider it? and he that keepeth thy soul, doth not he know it? and shall not he render to every man according to his works? %%% Bw'onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino: Oyo apima emitima takirowooza? N'oyo akuuma emmeeme yo takimaayi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli? 20PRO024.013 My son, eat thou honey, because it is good; and the honeycomb, which is sweet to thy taste: %%% Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byazo ebiwoomera amatama go. 20PRO024.014 So shall the knowledge of wisdom be unto thy soul: when thou hast found it, then there shall be a reward, and thy expectation shall not be cut off. %%% Onoomanyanga ng'amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo: Oba ng'ogalabye, awo walibaawo empeera, N'essuubi lyo teririmalibwawo. 20PRO024.015 Lay not wait, O wicked man, against the dwelling of the righteous; spoil not his resting place: %%% Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu: 20PRO024.016 For a just man falleth seven times, and riseth up again: but the wicked shall fall into mischief. %%% Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n'ayimuka nate: Naye ababi obuyinike bubasuula. 20PRO024.017 Rejoice not when thine enemy falleth, and let not thine heart be glad when he stumbleth: %%% Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga: 20PRO024.018 Lest the LORD see it, and it displease him, and he turn away his wrath from him. %%% Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'akyusa obusungu bwe okumuvaako. 20PRO024.019 Fret not thyself because of evil men, neither be thou envious at the wicked; %%% Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; So tokwatirwanga buggya ababi: 20PRO024.020 For there shall be no reward to the evil man; the candle of the wicked shall be put out. %%% Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettabaaza ey'ababi erizikizibwa. 20PRO024.021 My son, fear thou the LORD and the king: and meddle not with them that are given to change: %%% Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: So teweetabulanga n'abo abaagala okujjululajjulula. 20PRO024.022 For their calamity shall rise suddenly; and who knoweth the ruin of them both? %%% Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi? 20PRO024.023 These things also belong to the wise. It is not good to have respect of persons in judgment. %%% Era na bino bigambo bya bagezigezi. Okusosola mu bantu bw'osala emisango si kirungi. 20PRO024.024 He that saith unto the wicked, Thou art righteous; him shall the people curse, nations shall abhor him: %%% Agamba omubi nti Ggwe mutuukirivu; Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamutamwanga: 20PRO024.025 But to them that rebuke him shall be delight, and a good blessing shall come upon them. %%% Naye abo abamunenya be baliba n'essaayu, N'omukisa omulungi gulibatuukako. 20PRO024.026 Every man shall kiss his lips that giveth a right answer. %%% Addamu eby'ensonga Anywegera emimwa. 20PRO024.027 Prepare thy work without, and make it fit for thyself in the field; and afterwards build thine house. %%% Teekateekanga omulimu gwo ebweru, Ogwetegekerenga mu nnimiro; Oluvannyuma n'olyoka ozimba ennyumba yo. 20PRO024.028 Be not a witness against thy neighbour without cause; and deceive not with thy lips. %%% Tolumirizanga munno awatali asonga: So tolimbanga na mimwa gyo. 20PRO024.029 Say not, I will do so to him as he hath done to me: I will render to the man according to his work. %%% Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw'ankoze nze; Ndisasula omusajja oyo ng'omulimu gwe bwe gubadde. 20PRO024.030 I went by the field of the slothful, and by the vineyard of the man void of understanding; %%% Nayita ku nnimiro ey'omugayaavu, N'olusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera; 20PRO024.031 And, lo, it was all grown over with thorns, and nettles had covered the face thereof, and the stone wall thereof was broken down. %%% Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lusuuliddwa. 20PRO024.032 Then I saw, and considered it well: I looked upon it, and received instruction. %%% Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Nalaba ne mpeebwa okuyigirizibwa. 20PRO024.033 Yet a little sleep, a little slumber, a little folding of the hands to sleep: %%% Wakyaliwo okwebaka kutono, okubongoota kutono, Okufunya engalo okwebaka kutono: 20PRO024.034 So shall thy poverty come as one that travelleth; and thy want as an armed man. %%% Bwe kityo obwavu bwo bulituuka ng'omunyazi; N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa. 20PRO025.001 These are also proverbs of Solomon, which the men of Hezekiah king of Judah copied out. %%% Era na zino ngero za Sulemaani, abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika. 20PRO025.002 It is the glory of God to conceal a thing: but the honour of kings is to search out a matter. %%% Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda: Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka. 20PRO025.003 The heaven for height, and the earth for depth, and the heart of kings is unsearchable. %%% Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. N'omutima gwa bakabaka tegunoonyezeka. 20PRO025.004 Take away the dross from the silver, and there shall come forth a vessel for the finer. %%% Ggyangamu amasengere mu ffeeza, Ne muvaamu ekibya eky'omulongoosa: 20PRO025.005 Take away the wicked from before the king, and his throne shall be established in righteousness. %%% Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka, N'entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu. 20PRO025.006 Put not forth thyself in the presence of the king, and stand not in the place of great men: %%% Teweekuza mu maaso ga kabaka, So toyimiriranga mu kifo eky'abakulu: 20PRO025.007 For better it is that it be said unto thee, Come up hither; than that thou shouldest be put lower in the presence of the prince whom thine eyes have seen. %%% Kubanga waakiri bakugambe nti Yambuka wano; N'otossibwa wansi mu maaso g'omulangira, Amaaso go gwe galabye. 20PRO025.008 Go not forth hastily to strive, lest thou know not what to do in the end thereof, when thy neighbour hath put thee to shame. %%% Tofulumanga mangu okuwakana, Olemenga okubulwa ku nkomerero by'oba okola, Munno ng'akuswazizza. 20PRO025.009 Debate thy cause with thy neighbour himself; and discover not a secret to another: %%% Wozanga ensonga yo ne munno yennyini, So tobikkulanga kyama kya beene: 20PRO025.010 Lest he that heareth it put thee to shame, and thine infamy turn not away. %%% Akiwulira alemenga okukuvuma, Okuswala kwo ne kutavangawo. 20PRO025.011 A word fitly spoken is like apples of gold in pictures of silver. %%% Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza. 20PRO025.012 As an earring of gold, and an ornament of fine gold, so is a wise reprover upon an obedient ear. %%% Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'ekyobuyonjo ekya zaabu ennungi, Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda. 20PRO025.013 As the cold of snow in the time of harvest, so is a faithful messenger to them that send him: for he refresheth the soul of his masters. %%% Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be, 20PRO025.014 Whoso boasteth himself of a false gift is like clouds and wind without rain. %%% Ng'ebire n'empewo awatali nkuba, Bw'atyo bw'abeera oyo eyeenyumiriza olw'ebirabo bye ng'alimba. 20PRO025.015 By long forbearing is a prince persuaded, and a soft tongue breaketh the bone. %%% Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu, N'olulimi olugonvu lumenya eggumba. 20PRO025.016 Hast thou found honey? eat so much as is sufficient for thee, lest thou be filled therewith, and vomit it. %%% Olabye omubisi gw'enjuki? lyangako ogunaakumala obumazi; Olemenga okugukkuta n'ogusesema. 20PRO025.017 Withdraw thy foot from thy neighbour's house; lest he be weary of thee, and so hate thee. %%% Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno; Alemenga okukunyiwa n'akukyawa. 20PRO025.018 A man that beareth false witness against his neighbour is a maul, and a sword, and a sharp arrow. %%% Omuntu awaayiriza munne Nnyondo n'ekitala n'akasaale ak'obwogi. 20PRO025.019 Confidence in an unfaithful man in time of trouble is like a broken tooth, and a foot out of joint. %%% Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby'okulabiramu ennaku Linnyo erimenyese n'okugulu okusowose. 20PRO025.020 As he that taketh away a garment in cold weather, and as vinegar upon nitre, so is he that singeth songs to an heavy heart. %%% Ng'omuntu ayambula ekyambalo mu biro eby'empewo, era ng'omwenge omukaatuufu, oguli ku luvu, Bw'atyo bw'abeera oyo ayimbira ennyimba omutima oguliko obuyinike. 20PRO025.021 If thine enemy be hungry, give him bread to eat; and if he be thirsty, give him water to drink: %%% Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere ey'okulya; Era bw'alumwanga ennyonta, omuwanga amazzi okunywa: 20PRO025.022 For thou shalt heap coals of fire upon his head, and the LORD shall reward thee. %%% Kubanga olikuma amanda ag'omuliro ku mutwe gwe, Era Mukama alikuwa empeera. 20PRO025.023 The north wind driveth away rain: so doth an angry countenance a backbiting tongue. %%% Embuyaga ez'obukiika obwa kkono zireeta enkuba: N'olulimi olulyolyoma bwe luleeta bwe lutyo amaaso agaliko obusungu. 20PRO025.024 It is better to dwell in the corner of the housetop, than with a brawling woman and in a wide house. %%% Beeranga waggulu ku nnyumba awafunda, Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi. 20PRO025.025 As cold waters to a thirsty soul, so is good news from a far country. %%% Ng'amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, Ebigambo ebirungi ebiva mu nsi ey'ewala bwe biba bwe bityo. 20PRO025.026 A righteous man falling down before the wicked is as a troubled fountain, and a corrupt spring. %%% Ng'oluzzi olutabanguse, n'ensulo eyonoonese, Omuntu omutuukirivu bw'abeera bw'atyo bw'asegulira omubi. 20PRO025.027 It is not good to eat much honey: so for men to search their own glory is not glory. %%% Si kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo abantu okunoonya ekitiibwa kyabwe bo si kitiibwa. 20PRO025.028 He that hath no rule over his own spirit is like a city that is broken down, and without walls. %%% Ataziyiza mwoyo gwe Ali ng'ekibuga ekimenyese so nga tekirina bbugwe. 20PRO026.001 As snow in summer, and as rain in harvest, so honour is not seemly for a fool. %%% Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu, N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru. 20PRO026.002 As the bird by wandering, as the swallow by flying, so the curse causeless shall not come. %%% Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa. 20PRO026.003 A whip for the horse, a bridle for the ass, and a rod for the fool's back. %%% Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi, N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru. 20PRO026.004 Answer not a fool according to his folly, lest thou also be like unto him. %%% Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana. 20PRO026.005 Answer a fool according to his folly, lest he be wise in his own conceit. %%% Oddangamu omusirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okuba ow'amagezi mu kulowooza kwe ye. 20PRO026.006 He that sendeth a message by the hand of a fool cutteth off the feet, and drinketh damage. %%% Aweereza ebigambo mu mukono gw'omusirusiru Yeesalako ebigere, era anywa okufiirwa. 20PRO026.007 The legs of the lame are not equal: so is a parable in the mouth of fools. %%% Amagulu wo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja, Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusirusiru. 20PRO026.008 As he that bindeth a stone in a sling, so is he that giveth honour to a fool. 20PRO026.009 As a thorn goeth up into the hand of a drunkard, so is a parable in the mouth of fools. %%% Ng'eriggwa erifumita omukono gw'omutamiivu, Olugero bwe lubeera bwe lutyo mu kamwa k'abasirusiru. 20PRO026.010 The great God that formed all things both rewardeth the fool, and rewardeth transgressors. %%% Ng'omulasi afUMita bonna, Bw'abeera bw'atyo oyo agulirira omusirusiru, n'oyo agulirira abo abayitawo. 20PRO026.011 As a dog returneth to his vomit, so a fool returneth to his folly. %%% Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusirusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe. 20PRO026.012 Seest thou a man wise in his own conceit? there is more hope of a fool than of him. %%% Olaba omuntu ow'amagezi mu kulowooza kwe ye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye. 20PRO026.013 The slothful man saith, There is a lion in the way; a lion is in the streets. %%% Omugayaavu ayogera nti Waliwo empologoma mu kkubo; Empologoma eri mu nguudo. 20PRO026.014 As the door turneth upon his hinges, so doth the slothful upon his bed. %%% Ng'oluggi bwe lukyukira ku ŋŋango zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye. 20PRO026.015 The slothful hideth his hand in his bosom; it grieveth him to bring it again to his mouth. %%% Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya; Okuguzza nate ku kamwa ke kumukooyesa. 20PRO026.016 The sluggard is wiser in his own conceit than seven men that can render a reason. %%% Omugayaavu alina amagezi mu kulowooza kwe ye Okukira abantu omusanvu abayinza okuleeta ensonga. 20PRO026.017 He that passeth by, and meddleth with strife belonging not to him, is like one that taketh a dog by the ears. %%% Ayitawo ne yeeraliikirira olw'empaka ezitali zize Aliŋŋanga akwata embwa ku matu. 20PRO026.018 As a mad man who casteth firebrands, arrows, and death, %%% Ng'omutalu akasuka emimuli, N'obusaale, n'okufa; 20PRO026.019 So is the man that deceiveth his neighbour, and saith, Am not I in sport? %%% Bw'atyo bw'abeera omuntu alimba munne, N'ayogera nti Sizannya buzannya? 20PRO026.020 Where no wood is, there the fire goeth out: so where there is no talebearer, the strife ceaseth. %%% Enku nga zibuze omuliro kyeguva guzikira: Era awabuze omugeyi, okuyomba kuggwaawo. 20PRO026.021 As coals are to burning coals, and wood to fire; so is a contentious man to kindle strife. %%% Ng'amanda bwe gakwata ebisiriiza ebyokya n'enku nga bwe zikoleeza omuliro, Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo. 20PRO026.022 The words of a talebearer are as wounds, and they go down into the innermost parts of the belly. %%% Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto. 20PRO026.023 Burning lips and a wicked heart are like a potsherd covered with silver dross. %%% Emimwa eminyiikivu n'omutima omubi Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza. 20PRO026.024 He that hateth dissembleth with his lips, and layeth up deceit within him; %%% Akyawa akuusakuusa n'emimwa gye, Naye atereka obulimba mu ye: 20PRO026.025 When he speaketh fair, believe him not: for there are seven abominations in his heart. %%% Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga: Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu: 20PRO026.026 Whose hatred is covered by deceit, his wickedness shall be shewed before the whole congregation. %%% Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa, Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina. 20PRO026.027 Whoso diggeth a pit shall fall therein: and he that rolleth a stone, it will return upon him. %%% Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye. 20PRO026.028 A lying tongue hateth those that are afflicted by it; and a flattering mouth worketh ruin. %%% Olulimi olulimba lukyawa abo be lwafumita; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira. 20PRO027.001 Boast not thyself of to morrow; for thou knowest not what a day may bring forth. %%% Teweenyumirizanga bya nkya; Kubanga tomanyi bwe binaaba olunaku bye luyinza okuzaala. 20PRO027.002 Let another man praise thee, and not thine own mouth; a stranger, and not thine own lips. %%% Omundi akutenderezenga, so si kamwa ko ggwe; Omugenyi, so si mimwa gyo ggwe. 20PRO027.003 A stone is heavy, and the sand weighty; but a fool's wrath is heavier than them both. %%% Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito; Naye okweraliikirira kw'omusirusiru kubisinga byombi obuzito. 20PRO027.004 Wrath is cruel, and anger is outrageous; but who is able to stand before envy? %%% Obusungu bukambwe, n'ekiruyi mukoka; Naye ani ayinza okuyimirira awali obuggya? 20PRO027.005 Open rebuke is better than secret love. %%% Okunenya mu lwatu Kusinga obulungi okwagala okukisibwa. 20PRO027.006 Faithful are the wounds of a friend; but the kisses of an enemy are deceitful. %%% Ebiwundu eby'omukwano byesigwa: Naye okunywegera kw'omulabe kuba kungi nnyo nnyini. 20PRO027.007 The full soul loatheth an honeycomb; but to the hungry soul every bitter thing is sweet. %%% Emmeeme ekkuse etamwa ebisenge by'enjuki: Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu. 20PRO027.008 As a bird that wandereth from her nest, so is a man that wandereth from his place. %%% Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo, Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye. 20PRO027.009 Ointment and perfume rejoice the heart: so doth the sweetness of a man's friend by hearty counsel. %%% Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okw'omu mwoyo gwe. 20PRO027.010 Thine own friend, and thy father's friend, forsake not; neither go into thy brother's house in the day of thy calamity: for better is a neighbour that is near than a brother far off. %%% Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala. 20PRO027.011 My son, be wise, and make my heart glad, that I may answer him that reproacheth me. %%% Mwana wange, beeranga n'amagezi osanyusenga omutima gwange. Ndyokenga nziremu oyo anvuma. 20PRO027.012 A prudent man foreseeth the evil, and hideth himself; but the simple pass on, and are punished. %%% Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa. 20PRO027.013 Take his garment that is surety for a stranger, and take a pledge of him for a strange woman. %%% Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi. 20PRO027.014 He that blesseth his friend with a loud voice, rising early in the morning, it shall be counted a curse to him. %%% Eyeebaza mukwano gwe n'eddoboozi eddene, ng'agolokoka enkya mu makya, Kinaayitibwanga kikolimo gy'ali. 20PRO027.015 A continual dropping in a very rainy day and a contentious woman are alike. %%% Okutonnya olutata, obudde nga bwa nkuba nnyingi, N'omukazi omuyombi bw'afaanana: 20PRO027.016 Whosoever hideth her hideth the wind, and the ointment of his right hand, which bewrayeth itself. %%% Ayagala okumuziyiza aziyiza empewo, N'omukono gwe ogwa ddyo gulwana n'amafuta. 20PRO027.017 Iron sharpeneth iron; so a man sharpeneth the countenance of his friend. %%% Ekyuma kiwagala kyuma; Bw'atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe. 20PRO027.018 Whoso keepeth the fig tree shall eat the fruit thereof: so he that waiteth on his master shall be honoured. %%% Buli alima omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we anassibwangamu ekitiibwa. 20PRO027.019 As in water face answereth to face, so the heart of man to man. %%% Ng'amaaso bwe goolekera amaaso mu mazzi, Bwe gutyo omutima gw'omuntu bwe gwolekera omuntu. 20PRO027.020 Hell and destruction are never full; so the eyes of man are never satisfied. %%% Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna. 20PRO027.021 As the fining pot for silver, and the furnace for gold; so is a man to his praise. %%% Entamu erongoosa ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu, N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza. 20PRO027.022 Though thou shouldest bray a fool in a mortar among wheat with a pestle, yet will not his foolishness depart from him. %%% Ne bw'osekula omusirusiru mu kinu n'omusekuzo mu kasooli omusekule, Era naye obusirusiru bwe tebuumuvengako. 20PRO027.023 Be thou diligent to know the state of thy flocks, and look well to thy herds. %%% Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo: 20PRO027.024 For riches are not for ever: and doth the crown endure to every generation? %%% Kubanga obugagga si bwa lubeerera; Era engule ebeerera awo okutuusa emirembe gyonna? 20PRO027.025 The hay appeareth, and the tender grass sheweth itself, and herbs of the mountains are gathered. %%% Omuddo omukalu gutwalibwa n'essubi eggonvu lirabika, N'emiddo egy'oku nsozi bagiyingiza. 20PRO027.026 The lambs are for thy clothing, and the goats are the price of the field. %%% Abaana b'endiga baba ba kukwambaza, N'embuzi gwe muwendo gw'ennimiro: 20PRO027.027 And thou shalt have goats' milk enough for thy food, for the food of thy household, and for the maintenance for thy maidens. %%% Era walibaawo amata ag'embuzi; aganaamalanga okukuliisa n'okuliisa ab'omu nnyumba yo, N'ebyokulya eby'abawala bo. 20PRO028.001 The wicked flee when no man pursueth: but the righteous are bold as a lion. %%% Ababi badduka nga tewali muntu agoberera: Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma. 20PRO028.002 For the transgression of a land many are the princes thereof: but by a man of understanding and knowledge the state thereof shall be prolonged. %%% Olw'okusobya kw'ensi bakabaka baamu baba bangi: Naye olw'abantu abalina okutegeera n'okumanya okunywera kwayo kulyongerwako. 20PRO028.003 A poor man that oppresseth the poor is like a sweeping rain which leaveth no food. %%% Omuntu eyeetaaga ajooga abaavu Nkuba ewemmenta etalekaawo mmere yonna. 20PRO028.004 They that forsake the law praise the wicked: but such as keep the law contend with them. %%% Abo abaleka amateeka batendereza ababi: Naye abo abakwata amateeka bayomba nabo. 20PRO028.005 Evil men understand not judgment: but they that seek the LORD understand all things. %%% Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna. 20PRO028.006 Better is the poor that walketh in his uprightness, than he that is perverse in his ways, though he be rich. %%% Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga. 20PRO028.007 Whoso keepeth the law is a wise son: but he that is a companion of riotous men shameth his father. %%% Buli akwata amateeka mwana wa magezi: Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu akwasa kitaawe ensonyi. 20PRO028.008 He that by usury and unjust gain increaseth his substance, he shall gather it for him that will pity the poor. %%% Ayongera ku bintu bye olw'amagoba n'ebisalirwa Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu. 20PRO028.009 He that turneth away his ear from hearing the law, even his prayer shall be abomination. %%% Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo. 20PRO028.010 Whoso causeth the righteous to go astray in an evil way, he shall fall himself into his own pit: but the upright shall have good things in possession. %%% Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abatuukirira balisikira ebirungi. 20PRO028.011 The rich man is wise in his own conceit; but the poor that hath understanding searcheth him out. %%% Omugagga aba wa magezi mu kulowooza kwe ye; Naye omwavu alina okutegeera amukebera. 20PRO028.012 When righteous men do rejoice, there is great glory: but when the wicked rise, a man is hidden. %%% Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene: Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka. 20PRO028.013 He that covereth his sins shall not prosper: but whoso confesseth and forsaketh them shall have mercy. %%% Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa. 20PRO028.014 Happy is the man that feareth alway: but he that hardeneth his heart shall fall into mischief. %%% Alina omukisa omuntu atya mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi. 20PRO028.015 As a roaring lion, and a ranging bear; so is a wicked ruler over the poor people. %%% Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu etambulatambula; Bw'abeera bw'atyo omukulu omubi afuga abantu abaavu. 20PRO028.016 The prince that wanteth understanding is also a great oppressor: but he that hateth covetousness shall prolong his days. %%% Omulangira atalina kutegeera aba mujoozi nnyo era: Naye oyo akyawa omululu aliwangaala ennaku nnyingi. 20PRO028.017 A man that doeth violence to the blood of any person shall flee to the pit; let no man stay him. %%% Omuntu eyeebinise omusaayi ogwa buli muntu yenna Aliddukira mu bunnya; tewabangawo muntu amuziyiza. 20PRO028.018 Whoso walketh uprightly shall be saved: but he that is perverse in his ways shall fall at once. %%% Buli atambula n'obugolokofu aliwonyezebwa: Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago. 20PRO028.019 He that tilleth his land shall have plenty of bread: but he that followeth after vain persons shall have poverty enough. %%% Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abantu abataliiko kye bagasa aliba n'obwavu obulimumala. 20PRO028.020 A faithful man shall abound with blessings: but he that maketh haste to be rich shall not be innocent. %%% Omuntu omwesigwa aliba n'okwebazibwa kungi: Naye ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa. 20PRO028.021 To have respect of persons is not good: for for a piece of bread that man will transgress. %%% Okusosola mu bantu si kulungi: Newakubadde omuntu okusobya olw'akamere obumere. 20PRO028.022 He that hasteth to be rich hath an evil eye, and considereth not that poverty shall come upon him. %%% Alina eriiso ebbi ayanguwa okugoberera obugagga, So tamanyi ng'okwetaaga kulimutuukako. 20PRO028.023 He that rebuketh a man afterwards shall find more favour than he that flattereth with the tongue. %%% Anenya omuntu oluvannyuma alyeyongera okuganja Okusinga oyo anyumiriza n'olulimi. 20PRO028.024 Whoso robbeth his father or his mother, and saith, It is no transgression; the same is the companion of a destroyer. %%% Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango; Oyo ye munne w'omuzikiriza. 20PRO028.025 He that is of a proud heart stirreth up strife: but he that putteth his trust in the LORD shall be made fat. %%% Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo: Naye eyeesiga Mukama aligejja. 20PRO028.026 He that trusteth in his own heart is a fool: but whoso walketh wisely, he shall be delivered. %%% Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru: Naye atambula n'amagezi ye aliwonyezebwa. 20PRO028.027 He that giveth unto the poor shall not lack: but he that hideth his eyes shall have many a curse. %%% Agabira omwavu teyeetaagenga: Naye akisa amaaso ge anaabanga n'ebikolimo bingi. 20PRO028.028 When the wicked rise, men hide themselves: but when they perish, the righteous increase. %%% Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka: Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera. 20PRO029.001 He, that being often reproved hardeneth his neck, shall suddenly be destroyed, and that without remedy. %%% Omuntu akakanyaza ensingo ye bw'anenyezebwa emirundi emingi Alimenyeka nga tamanyiridde awatali kuwonyezebwa. 20PRO029.002 When the righteous are in authority, the people rejoice: but when the wicked beareth rule, the people mourn. %%% Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka: Naye omuntu omubi bw'afuga, abantu basinda. 20PRO029.003 Whoso loveth wisdom rejoiceth his father: but he that keepeth company with harlots spendeth his substance. %%% Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe: Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye. 20PRO029.004 The king by judgment establisheth the land: but he that receiveth gifts overthroweth it. %%% Kabaka anyweza ensi lwa kusala misango: Naye asolooza enguzi agisuula. 20PRO029.005 A man that flattereth his neighbour spreadeth a net for his feet. %%% Omuntu anyumiriza munne Ategera ebigere bye ekitimba. 20PRO029.006 In the transgression of an evil man there is a snare: but the righteous doth sing and rejoice. %%% Mu kusobya kw'omuntu omubi mulimu ekyambika: Naye omutuukirivu ayimba n'asanyuka. 20PRO029.007 The righteous considereth the cause of the poor: but the wicked regardeth not to know it. %%% Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu: Naye omubi talina kutegeera okugimanya. 20PRO029.008 Scornful men bring a city into a snare: but wise men turn away wrath. %%% Abantu abanyooma basasamaza ekibuga: Naye abantu ab'amagezi bakyusa obusungu ne buvaawo. 20PRO029.009 If a wise man contendeth with a foolish man, whether he rage or laugh, there is no rest. %%% Omuntu ow'amagezi bw'aba n'empaka n'omuntu omusirusiru, Oba nga asunguwala oba nga aseka, tewaliba kuwummula. 20PRO029.010 The bloodthirsty hate the upright: but the just seek his soul. %%% Abayagala omusaayi bakyawa oyo eyatuukirira: N'omugolokofu banoonya obulamu bwe. 20PRO029.011 A fool uttereth all his mind: but a wise man keepeth it in till afterwards. %%% Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna: Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya. 20PRO029.012 If a ruler hearken to lies, all his servants are wicked. %%% Omukulu bw'awulira eby'obulimba, Abaddu be bonna baba babi. 20PRO029.013 The poor and the deceitful man meet together: the LORD lighteneth both their eyes. %%% Omwavu n'omujoozi balabagana: Mukama ayakira amaaso gaabwe bombi. 20PRO029.014 The king that faithfully judgeth the poor, his throne shall be established for ever. %%% Kabaka asalira abaavu emisango n'obwesigwa, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna. 20PRO029.015 The rod and reproof give wisdom: but a child left to himself bringeth his mother to shame. %%% Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi. 20PRO029.016 When the wicked are multiplied, transgression increaseth: but the righteous shall see their fall. %%% Ababi bwe beeyongera, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu balitunuulira okugwa kwabwe. 20PRO029.017 Correct thy son, and he shall give thee rest; yea, he shall give delight unto thy soul. %%% Buuliriranga omwana wo, anaakuwanga okuwummula; Weewaawo, anaasanyusanga emmeeme yo. 20PRO029.018 Where there is no vision, the people perish: but he that keepeth the law, happy is he. %%% Awatali kwolesebwa, abantu basuula okuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa. 20PRO029.019 A servant will not be corrected by words: for though he understand he will not answer. %%% Omuddu taganya kubuulirirwa lwa bigambo: Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo. 20PRO029.020 Seest thou a man that is hasty in his words? there is more hope of a fool than of him. %%% Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye. 20PRO029.021 He that delicately bringeth up his servant from a child shall have him become his son at the length. %%% Alera omuddu we nga yeekanasa okuva mu buto bwe Alimufuukira omwana ku nkomerero. 20PRO029.022 An angry man stirreth up strife, and a furious man aboundeth in transgression. %%% Omuntu ow'obusungu aleeta ennyombo, N'ow'ekiruyi okusobya kwe kuba kungi nnyo nnyini. 20PRO029.023 A man's pride shall bring him low: but honour shall uphold the humble in spirit. %%% Amalala ag'omuntu galimutoowaza: Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa. 20PRO029.024 Whoso is partner with a thief hateth his own soul: he heareth cursing, and bewrayeth it not. %%% Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Awulira okulayizibwa n'atabaako ky'ayogera. 20PRO029.025 The fear of man bringeth a snare: but whoso putteth his trust in the LORD shall be safe. %%% Okutya abantu kuleeta ekyambika: Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe. 20PRO029.026 Many seek the ruler's favour; but every man's judgment cometh from the LORD. %%% Bangi abaagala okuganja eri omukulu: Naye omusango gw'omuntu guva eri Mukama. 20PRO029.027 An unjust man is an abomination to the just: and he that is upright in the way is abomination to the wicked. %%% Omuntu atali wa nsonga wa muzizo eri abatuukirivu: N'oyo akwata ekkubo eggolokofu wa muzizo eri ababi. 20PRO030.001 The words of Agur the son of Jakeh, even the prophecy: the man spake unto Ithiel, even unto Ithiel and Ucal, %%% Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; ebyalagulwa. Omusajja agamba Isyeri, Isyeri ne Ukali; 20PRO030.002 Surely I am more brutish than any man, and have not the understanding of a man. %%% Nti Mazima nninga ensolo okusinga omuntu yenna, So sirina kutegeera kwa muntu: 20PRO030.003 I neither learned wisdom, nor have the knowledge of the holy. %%% So siyiganga magezi, So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu. 20PRO030.004 Who hath ascended up into heaven, or descended? who hath gathered the wind in his fists? who hath bound the waters in a garment? who hath established all the ends of the earth? what is his name, and what is his son's name, if thou canst tell? %%% Ani eyali alinnye mu ggulu n'akka? Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi. Erinnya lye ye ani, n'omwana we erinnya lye ye ani, oba ng'omanyi? 20PRO030.005 Every word of God is pure: he is a shield unto them that put their trust in him. %%% Buli kigambo kya Katonda kikemebwa: Aba ngabo eri abo abamwesiga. 20PRO030.006 Add thou not unto his words, lest he reprove thee, and thou be found a liar. %%% Toyongeranga ku bigambo bye, Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba. 20PRO030.007 Two things have I required of thee; deny me them not before I die: %%% Nkusabye ebigambo bibiri; Tonnyima nga sinnafa: 20PRO030.008 Remove far from me vanity and lies: give me neither poverty nor riches; feed me with food convenient for me: %%% Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga: 20PRO030.009 Lest I be full, and deny thee, and say, Who is the LORD? or lest I be poor, and steal, and take the name of my God in vain. %%% Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange. 20PRO030.010 Accuse not a servant unto his master, lest he curse thee, and thou be found guilty. %%% Towaayirizanga muddu eri mukama we, Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango. 20PRO030.011 There is a generation that curseth their father, and doth not bless their mother. %%% Waliwo abantu abakolimira kitaabwe; So tebasabira nnyaabwe omukisa. 20PRO030.012 There is a generation that are pure in their own eyes, and yet is not washed from their filthiness. %%% Waliwo abantu ababa abalongoofu mu maaso gaabwe bo, Era naye tebanaazibwako empitambi yaabwe. 20PRO030.013 There is a generation, O how lofty are their eyes! and their eyelids are lifted up. %%% Waliwo abantu, amaaso gaabwe nga malalambavu! N'ebikowe byabwe bigulumizibwa. 20PRO030.014 There is a generation, whose teeth are as swords, and their jaw teeth as knives, to devour the poor from off the earth, and the needy from among men. %%% Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu. 20PRO030.015 The horseleach hath two daughters, crying, Give, give. There are three things that are never satisfied, yea, four things say not, It is enough: %%% Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo: 20PRO030.016 The grave; and the barren womb; the earth that is not filled with water; and the fire that saith not, It is enough. %%% Amagombe; n'olubuto olugumba; N'ensi etekkuta mazzi; N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo. 20PRO030.017 The eye that mocketh at his father, and despiseth to obey his mother, the ravens of the valley shall pick it out, and the young eagles shall eat it. %%% Eriiso erikudaalira kitaawe, Ne linyooma okugondera nnyina, Bannamuŋŋoona ab'omu kiwonvu baliriggyamu, N'empungu ziririrya. 20PRO030.018 There be three things which are too wonderful for me, yea, four which I know not: %%% Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo ebinnema, Weewaawo, ebina bye ssimanyi: 20PRO030.019 The way of an eagle in the air; the way of a serpent upon a rock; the way of a ship in the midst of the sea; and the way of a man with a maid. %%% Ekkubo ery'empungu mu bbanga; Ekkubo ery'omusota ku lwazi; Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja; N'ekkubo ery'omusajja n'omuwala. 20PRO030.020 Such is the way of an adulterous woman; she eateth, and wipeth her mouth, and saith, I have done no wickedness. %%% Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi; Alya n'asangula ku mimwa gye, N'ayogera nti Siriiko bubi bwe nkoze. 20PRO030.021 For three things the earth is disquieted, and for four which it cannot bear: %%% Ensi ekankanira ebigambo bisatu, Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza: 20PRO030.022 For a servant when he reigneth; and a fool when he is filled with meat; %%% Omuddu bw'aba kabaka; N'omusirusiru bw'akkuta emmere; 20PRO030.023 For an odious woman when she is married; and an handmaid that is heir to her mistress. %%% Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa; N'omuzaana asikira mugole we. 20PRO030.024 There be four things which are little upon the earth, but they are exceeding wise: %%% Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini: 20PRO030.025 The ants are a people not strong, yet they prepare their meat in the summer; %%% Enkolooto lye ggwanga eritalina maanyi, Naye zeeterekera emmere yaazo mu kyeya; 20PRO030.026 The conies are but a feeble folk, yet make they their houses in the rocks; %%% Obumyu buntu bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja; 20PRO030.027 The locusts have no king, yet go they forth all of them by bands; %%% Enzige tezirina kabaka, Naye zitabaala zonna bibiina bibiina; 20PRO030.028 The spider taketh hold with her hands, and is in kings' palaces. %%% Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mayumba ga bakabaka. 20PRO030.029 There be three things which go well, yea, four are comely in going: %%% Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo, Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda: 20PRO030.030 A lion which is strongest among beasts, and turneth not away for any; %%% Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi, So tewali gy'esegulira yonna; 20PRO030.031 A greyhound; an he goat also; and a king, against whom there is no rising up. %%% Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume; Ne kabaka atagolokokerwako. 20PRO030.032 If thou hast done foolishly in lifting up thyself, or if thou hast thought evil, lay thine hand upon thy mouth. %%% Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza, Oba ng'olowoozezza obubi, Teekanga omukono gwo ku kamwa ko. 20PRO030.033 Surely the churning of milk bringeth forth butter, and the wringing of the nose bringeth forth blood: so the forcing of wrath bringeth forth strife. %%% Kubanga okusunda amata kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi: N'okunyigiriza kw'obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo. 20PRO031.001 The words of king Lemuel, the prophecy that his mother taught him. %%% Ebigambo bya kabaka Lemweri; ebyalagulwa nnyina bye yamuyigiriza. 20PRO031.002 What, my son? and what, the son of my womb? and what, the son of my vows? %%% Kiki, mwana wange? era kiki, ai mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ai mwana w'obweyamo bwange? 20PRO031.003 Give not thy strength unto women, nor thy ways to that which destroyeth kings. %%% Towanga bakazi amaanyi go, Newakubadde amakubo go eri ekyo ekizikiriza bakabaka. 20PRO031.004 It is not for kings, O Lemuel, it is not for kings to drink wine; nor for princes strong drink: %%% Si kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okwogeranga nti Ekitamiiza kiri ludda wa? 20PRO031.005 Lest they drink, and forget the law, and pervert the judgment of any of the afflicted. %%% Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne banyoola omusango gw'omuntu yenna abonyaabonyezebwa. 20PRO031.006 Give strong drink unto him that is ready to perish, and wine unto those that be of heavy hearts. %%% Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa, N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike: 20PRO031.007 Let him drink, and forget his poverty, and remember his misery no more. %%% Anywenga yeerabirenga obwavu bwe, Alemenga okujjukira nate ennaku ze. 20PRO031.008 Open thy mouth for the dumb in the cause of all such as are appointed to destruction. %%% Yasamanga akamwa ko olwa kasiru, Okuwoza ensonga y'abo bonna abalekebwa nga tebalina bannaabwe. 20PRO031.009 Open thy mouth, judge righteously, and plead the cause of the poor and needy. %%% Yasamanga akamwa ko osalenga emisango egy'ensonga, Osalirenga emisango omwavu n'eyeetaaga. 20PRO031.010 Who can find a virtuous woman? for her price is far above rubies. %%% Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusinga wala amayinja amatwakaavu. 20PRO031.011 The heart of her husband doth safely trust in her, so that he shall have no need of spoil. %%% Omutima gwa bba gumwesiga, So taabulwenga magoba. 20PRO031.012 She will do him good and not evil all the days of her life. %%% Amukola bulungi so si bubi Ennaku zonna ez'obulamu bwe. 20PRO031.013 She seeketh wool, and flax, and worketh willingly with her hands. %%% Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba, N'akola emirimu n'engalo ze n’essanyu. 20PRO031.014 She is like the merchants' ships; she bringeth her food from afar. %%% Ali ng'amaato ag'abasuubuzi; Emmere ye agiggya wala. 20PRO031.015 She riseth also while it is yet night, and giveth meat to her household, and a portion to her maidens. %%% Era agolokoka nga bukyali bwa kiro, N'awa ab'omu nnyumba ye ebyokulya, N'agabira abawala be emirimu gyabwe. 20PRO031.016 She considereth a field, and buyeth it: with the fruit of her hands she planteth a vineyard. %%% Alowooza ennimiro n'agiguia: Asimba olusuku olw'emizabbibu n'ebibala eby'emikono gye. 20PRO031.017 She girdeth her loins with strength, and strengtheneth her arms. %%% Yeesiba n'amaanyi, N'anyweza emikono gye. 20PRO031.018 She perceiveth that her merchandise is good: her candle goeth not out by night. %%% Alaba ng'obuguzi bwe bulimu ettunzi: Ettabaaza ye tezikira kiro. 20PRO031.019 She layeth her hands to the spindle, and her hands hold the distaff. %%% Ateeka engalo ze ku muggo ogubaako ppamba, Emikono gye ne gikwata akati akalanga. 20PRO031.020 She stretcheth out her hand to the poor; yea, she reacheth forth her hands to the needy. %%% Ayanjululiza omwavu omukono gwe: Weewaawo, agololera emikono gye oyo eyeetaaga. 20PRO031.021 She is not afraid of the snow for her household: for all her household are clothed with scarlet. %%% Omuzira tagutiira ab'omu nnyumba ye; Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna bambadde olugoye olumyufu. 20PRO031.022 She maketh herself coverings of tapestry; her clothing is silk and purple. %%% Yeekolera amagodooli; Ebyambalo bye bafuta nnungi n'olugoye olw'effulungu. 20PRO031.023 Her husband is known in the gates, when he sitteth among the elders of the land. %%% Bba amanyibwa mu miryango, Bw'atuula mu bakadde ab'ensi. 20PRO031.024 She maketh fine linen, and selleth it; and delivereth girdles unto the merchant. %%% Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda; N'awa omusuubuzi enkoba. 20PRO031.025 Strength and honour are her clothing; and she shall rejoice in time to come. %%% Amaanyi n'okutiibwa bye byambalo bye; Era asekerera ebiro ebigenda okujja. 20PRO031.026 She openeth her mouth with wisdom; and in her tongue is the law of kindness. %%% Ayasama akamwa ke n'amagezi; N'etteeka ery'ekisa liba ku lulimi lwe. 20PRO031.027 She looketh well to the ways of her household, and eateth not the bread of idleness. %%% Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye, So talya mmere ya kugayaala. 20PRO031.028 Her children arise up, and call her blessed; her husband also, and he praiseth her. %%% Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti 20PRO031.029 Many daughters have done virtuously, but thou excellest them all. %%% Abawala bangi abaakola eby'okwegendereza, Naye ggwe obasinga bonna. 20PRO031.030 Favour is deceitful, and beauty is vain: but a woman that feareth the LORD, she shall be praised. %%% Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa: Naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga. 20PRO031.031 Give her of the fruit of her hands; and let her own works praise her in the gates. %%% Mumuwenga ku bibala eby'emikono gye; N'emirimu gye gimutenderezenga mu miryango. 21ECC001.001 The words of the Preacher, the son of David, king in Jerusalem. %%% Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi. 21ECC001.002 Vanity of vanities, saith the Preacher, vanity of vanities; all is vanity. %%% Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu. 21ECC001.003 What profit hath a man of all his labour which he taketh under the sun? %%% Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba? 21ECC001.004 One generation passeth away, and another generation cometh: but the earth abideth for ever. %%% Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala gijja; ensi n'ebeerera awo ennaku zonna. 21ECC001.005 The sun also ariseth, and the sun goeth down, and hasteth to his place where he arose. %%% Era n'enjuba evaayo, enjuba n'egwa, n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva. 21ECC001.006 The wind goeth toward the south, and turneth about unto the north; it whirleth about continually, and the wind returneth again according to his circuits. %%% Empewo egenda eri obukiika obwa ddyo, n'ekyukira obukiika obwa kkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo. 21ECC001.007 All the rivers run into the sea; yet the sea is not full; unto the place from whence the rivers come, thither they return again. %%% Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate. 21ECC001.008 All things are full of labour; man cannot utter it: the eye is not satisfied with seeing, nor the ear filled with hearing. %%% Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu tayinza kubwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira. 21ECC001.009 The thing that hath been, it is that which shall be; and that which is done is that which shall be done: and there is no new thing under the sun. %%% Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwanga kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba. 21ECC001.010 Is there any thing whereof it may be said, See, this is new? it hath been already of old time, which was before us. %%% Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti Laba, kino kiggya? kyamala okubaawo mu mirembe egyatusooka. 21ECC001.011 There is no remembrance of former things; neither shall there be any remembrance of things that are to come with those that shall come after. %%% Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvaanyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo. 21ECC001.012 I the Preacher was king over Israel in Jerusalem. %%% Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi. 21ECC001.013 And I gave my heart to seek and search out by wisdom concerning all things that are done under heaven: this sore travail hath God given to the sons of man to be exercised therewith. %%% Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya o1w'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu: bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'a bantu okubaluma. 21ECC001.014 I have seen all the works that are done under the sun; and, behold, all is vanity and vexation of spirit. %%% Nalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 21ECC001.015 That which is crooked cannot be made straight: and that which is wanting cannot be numbered. %%% Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa: n'ekyo ekitatuuka tekibalika. 21ECC001.016 I communed with mine own heart, saying, Lo, I am come to great estate, and have gotten more wisdom than all they that have been before me in Jerusalem: yea, my heart had great experience of wisdom and knowledge. %%% Nateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti Laba, neefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi: weewaawo, omutima gwange gwalaba nnyo amagezi n'okumanya. 21ECC001.017 And I gave my heart to know wisdom, and to know madness and folly: I perceived that this also is vexation of spirit. %%% Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru: nalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo. 21ECC001.018 For in much wisdom is much grief: and he that increaseth knowledge increaseth sorrow. %%% Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi: n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku. 21ECC002.001 I said in mine heart, Go to now, I will prove thee with mirth, therefore enjoy pleasure: and, behold, this also is vanity. %%% Nayogera mu mutima gwange nti Kale nno, naakukema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu: era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu. 21ECC002.002 I said of laughter, It is mad: and of mirth, What doeth it? %%% Nayogera ku nseko nti Ziraluse: ne ku binyumu nti Bikola ki? 21ECC002.003 I sought in mine heart to give myself unto wine, yet acquainting mine heart with wisdom; and to lay hold on folly, till I might see what was that good for the sons of men, which they should do under the heaven all the days of their life. %%% Nanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, era bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe. 21ECC002.004 I made me great works; I builded me houses; I planted me vineyards: %%% Neekolera emirimu eminene, neezimbira ennyumba; neesimbira ensuku ez'emizabbibu; 21ECC002.005 I made me gardens and orchards, and I planted trees in them of all kind of fruits: %%% neekolera ensuku n'ennimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri zonna: 21ECC002.006 I made me pools of water, to water therewith the wood that bringeth forth trees: %%% neesimira ebidiba eby'amazzi, okugafukiriza ekibira emiti mwe gyasimbibwa: 21ECC002.007 I got me servants and maidens, and had servants born in my house; also I had great possessions of great and small cattle above all that were in Jerusalem before me: %%% nagula abaddu n'abazaana, ne nzaalirwa abaddu mu nnyumba yange: era nalina obugagga bungi obw'ente n'embuzi, okukira abo bonna abansooka mu Yerusaalemi: 21ECC002.008 I gathered me also silver and gold, and the peculiar treasure of kings and of the provinces: I gat me men singers and women singers, and the delights of the sons of men, as musical instruments, and that of all sorts. %%% era neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza: neefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, abazaana bangi nnyo. 21ECC002.009 So I was great, and increased more than all that were before me in Jerusalem: also my wisdom remained with me. %%% Kale ne mba mukulu, ne nneeyongera okusinga bonna abansooka mu Yerusaalemi: era amagezi gange ne gabeera nange. 21ECC002.010 And whatsoever mine eyes desired I kept not from them, I withheld not my heart from any joy; for my heart rejoiced in all my labour: and this was my portion of all my labour. %%% Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga saakigamma: saaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna. 21ECC002.011 Then I looked on all the works that my hands had wrought, and on the labour that I had laboured to do: and, behold, all was vanity and vexation of spirit, and there was no profit under the sun. %%% Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola: era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba. 21ECC002.012 And I turned myself to behold wisdom, and madness, and folly: for what can the man do that cometh after the king? even that which hath been already done. %%% Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru: kubanga omuntu ayinza ki addirira kabaka? Ayinza ekyo ekyakolebwa edda. 21ECC002.013 Then I saw that wisdom excelleth folly, as far as light excelleth darkness. %%% Awo ne ndaba ng'amagezi gasinga obusirusiru obulungi ng'omusana bwe gusinga ekizikiza. 21ECC002.014 The wise man's eyes are in his head; but the fool walketh in darkness: and I myself perceived also that one event happeneth to them all. %%% Omugezigezi amaaso ge gaba mu mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza: era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu kibatuukako. 21ECC002.015 Then said I in my heart, As it happeneth to the fool, so it happeneth even to me; and why was I then more wise? Then I said in my heart, that this also is vanity. %%% Awo ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Ekituuka ku musirusiru era kye kirituuka ku nze nange; kale musinga mu ki amagezi? Kale ne njogera mu mutima gwange nga n'ekyo butaliimu. 21ECC002.016 For there is no remembrance of the wise more than of the fool for ever; seeing that which now is in the days to come shall all be forgotten. And how dieth the wise man? as the fool. %%% Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru tajjukirwa mirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru! 21ECC002.017 Therefore I hated life; because the work that is wrought under the sun is grievous unto me: for all is vanity and vexation of spirit. %%% Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama: kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 21ECC002.018 Yea, I hated all my labour which I had taken under the sun: because I should leave it unto the man that shall be after me. %%% Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba: kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra. 21ECC002.019 And who knoweth whether he shall be a wise man or a fool? yet shall he have rule over all my labour wherein I have laboured, and wherein I have shewed myself wise under the sun. This is also vanity. %%% Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru, naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, ere kwe nnayolesezaamu amagezi wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu. 21ECC002.020 Therefore I went about to cause my heart to despair of all the labour which I took under the sun. %%% Kyennava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba. 21ECC002.021 For there is a man whose labour is in wisdom, and in knowledge, and in equity; yet to a man that hath not laboured therein shall he leave it for his portion. This also is vanity and a great evil. %%% Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene. 21ECC002.022 For what hath man of all his labour, and of the vexation of his heart, wherein he hath laboured under the sun? %%% Kubanga omuntu afuna ki olw'okutegana kwe kwonna n'olw'okufuba kw'omutima gwe kw'ategaaa wansi w'enjuba? 21ECC002.023 For all his days are sorrows, and his travail grief; yea, his heart taketh not rest in the night. This is also vanity. %%% Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu. 21ECC002.024 There is nothing better for a man, than that he should eat and drink, and that he should make his soul enjoy good in his labour. This also I saw, that it was from the hand of God. %%% Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi mu kutegana kwe. Era n'ekyo nakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda. 21ECC002.025 For who can eat, or who else can hasten hereunto, more than I? %%% Kubanga ani ayinza okulya, oba ani ayinza okuba n'essanyu okukira nze? 21ECC002.026 For God giveth to a man that is good in his sight wisdom, and knowledge, and joy: but to the sinner he giveth travail, to gather and to heap up, that he may give to him that is good before God. This also is vanity and vexation of spirit. %%% Kubanga omuntu amusanyusa Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu: naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. 21ECC003.001 To every thing there is a season, and a time to every purpose under the heaven: %%% Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w'eggulu kiriko ekiseera kyakyo: 21ECC003.002 A time to be born, and a time to die; a time to plant, and a time to pluck up that which is planted; %%% ekiseera eky'okuzaalirwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu, n'ekiseera eky'okusimbuliramu ekyo ekyasimbibwa; 21ECC003.003 A time to kill, and a time to heal; a time to break down, and a time to build up; %%% ekiseera eky'okuttiramu, n'ekiseera eky'okuwonyezaamu; ekiseera eky'okwabizaamu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu; 21ECC003.004 A time to weep, and a time to laugh; a time to mourn, and a time to dance; %%% ekiseera eky'okukaabiramu amaziga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okuwuubaaliramu, n'ekiseera eky'okuziniramu; 21ECC003.005 A time to cast away stones, and a time to gather stones together; a time to embrace, and a time to refrain from embracing; %%% ekiseera eky'okusuuliramu amayinja, n'ekiseera eky'okukugnaanyizaamu amayinja; ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba; 21ECC003.006 A time to get, and a time to lose; a time to keep, and a time to cast away; %%% ekiseera eky'okunoonyezaamu, n'ekiseera eky'okubulirwamu; ekiseera eky'okukuumiramu, n'ekiseera eky'okusuuliramu; 21ECC003.007 A time to rend, and a time to sew; a time to keep silence, and a time to speak; %%% ekiseera eky'okuyulizaamu, n'eluseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okwogereramu; 21ECC003.008 A time to love, and a time to hate; a time of war, and a time of peace. %%% ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'okutabaganiramu. 21ECC003.009 What profit hath he that worketh in that wherein he laboureth? %%% Magoba ki gaafuna oyo akola emirimu mu ekyo mw'ateganira? 21ECC003.010 I have seen the travail, which God hath given to the sons of men to be exercised in it. %%% Nalaba okutegana Katonda kwe yawa abaana b'abantu okubateganya. 21ECC003.011 He hath made every thing beautiful in his time: also he hath set the world in their heart, so that no man can find out the work that God maketh from the beginning to the end. %%% Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw'atyo omuntu n'okuyinza n'atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero. 21ECC003.012 I know that there is no good in them, but for a man to rejoice, and to do good in his life. %%% Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n'okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. 21ECC003.013 And also that every man should eat and drink, and enjoy the good of all his labour, it is the gift of God. %%% Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda. 21ECC003.014 I know that, whatsoever God doeth, it shall be for ever: nothing can be put to it, nor any thing taken from it: and God doeth it, that men should fear before him. %%% Mmanyi nga buli Katonda ky'akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako: era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge. 21ECC003.015 That which hath been is now; and that which is to be hath already been; and God requireth that which is past. %%% Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo. 21ECC003.016 And moreover I saw under the sun the place of judgment, that wickedness was there; and the place of righteousness, that iniquity was there. %%% Era nate nalaba wansi w'enjuba mu kifo eky'okusaliramu emisango ng'obubi bwali eyo; ne mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubi bwali omwo. 21ECC003.017 I said in mine heart, God shall judge the righteous and the wicked: for there is a time there for every purpose and for every work. %%% Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy'omutuukirivu n'omubi: kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonna n'omulimu gwonna. 21ECC003.018 I said in mine heart concerning the estate of the sons of men, that God might manifest them, and that they might see that they themselves are beasts. %%% Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw'abaana b'abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng'ensolo obusolo. 21ECC003.019 For that which befalleth the sons of men befalleth beasts; even one thing befalleth them: as the one dieth, so dieth the other; yea, they have all one breath; so that a man hath no preeminence above a beast: for all is vanity. %%% Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu kye kituuka ku nsolo; ekigambo kimu kibatuukako; ng'eyo bw'efa, n'oyo bw'afa bw'atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo: kubanga byonna butaliimu. 21ECC003.020 All go unto one place; all are of the dust, and all turn to dust again. %%% Bonna bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate. 21ECC003.021 Who knoweth the spirit of man that goeth upward, and the spirit of the beast that goeth downward to the earth? %%% Ani amanyi omwoyo gw'abantu oba nga gulinnya mu ggulu, n'omwoyo gw'ensolo oba gukka wansi mu ttaka? 21ECC003.022 Wherefore I perceive that there is nothing better, than that a man should rejoice in his own works; for that is his portion: for who shall bring him to see what shall be after him? %%% Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe? 21ECC004.001 So I returned, and considered all the oppressions that are done under the sun: and behold the tears of such as were oppressed, and they had no comforter; and on the side of their oppressors there was power; but they had no comforter. %%% Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba: era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, naye no nga tebalina abasanyusa. 21ECC004.002 Wherefore I praised the dead which are already dead more than the living which are yet alive. %%% Kyennava ntendereza abafu abaamala okufa okusinga abalamu abakyalaba; 21ECC004.003 Yea, better is he than both they, which hath not yet been, who hath not seen the evil work that is done under the sun. %%% weewaawo, ne ndowooza okusinga bombi oyo atannabaawo, atalabanga mulimu mubi ogukolebwa wansi w'enjuba. 21ECC004.004 Again, I considered all travail, and every right work, that for this a man is envied of his neighbour. This is also vanity and vexation of spirit. %%% Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. 21ECC004.005 The fool foldeth his hands together, and eateth his own flesh. %%% Omusirusiru afunya emikono gye, n'alya omubiri gwe ye. 21ECC004.006 Better is an handful with quietness, than both the hands full with travail and vexation of spirit. %%% Olubatu lumu wamu n'okutereera lusinga embatu bbiri wamu n'okutegana n'okugoberera empewo. 21ECC004.007 Then I returned, and I saw vanity under the sun. %%% Awo ne nzirayo ne ndaba obutaliimu wansi w'enjuba. 21ECC004.008 There is one alone, and there is not a second; yea, he hath neither child nor brother: yet is there no end of all his labour; neither is his eye satisfied with riches; neither saith he, For whom do I labour, and bereave my soul of good? This is also vanity, yea, it is a sore travail. %%% Wabaawo ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda: naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. Kale nteganira ani, bw'ayogera, ne nnyima emmeeme yange ebirungi? Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kweraliikirira kungi. 21ECC004.009 Two are better than one; because they have a good reward for their labour. %%% Babiri basinga omu; kubanga baba n'empeera ennungi olw'okutegana kwabwe. 21ECC004.010 For if they fall, the one will lift up his fellow: but woe to him that is alone when he falleth; for he hath not another to help him up. %%% Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne: naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa. 21ECC004.011 Again, if two lie together, then they have heat: but how can one be warm alone? %%% Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma: naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka? 21ECC004.012 And if one prevail against him, two shall withstand him; and a threefold cord is not quickly broken. %%% Era omuntu bw'asinga oyo ali yekka, ababiri be balimusobola; n'omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka. 21ECC004.013 Better is a poor and a wise child than an old and foolish king, who will no more be admonished. %%% Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyamanyi kubuulirirwa. 21ECC004.014 For out of prison he cometh to reign; whereas also he that is born in his kingdom becometh poor. %%% Kubanga mu kkomera mwe yava okuba kabaka; weewaawo, ne mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu. 21ECC004.015 I considered all the living which walk under the sun, with the second child that shall stand up in his stead. %%% Nalaba abalamu bonna abatambulira wansi w'enjuba, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayimirira mu kifo kye. 21ECC004.016 There is no end of all the people, even of all that have been before them: they also that come after shall not rejoice in him. Surely this also is vanity and vexation of spirit. %%% Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira: naye abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. 21ECC005.001 Keep thy foot when thou goest to the house of God, and be more ready to hear, than to give the sacrifice of fools: for they consider not that they do evil. %%% Okuumanga ekigere kyo bw'ogendanga mu nnyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo ssaddaaka ey'abasirusiru: kubanga tebamanyi nga bakola bubi. 21ECC005.002 Be not rash with thy mouth, and let not thine heart be hasty to utter any thing before God: for God is in heaven, and thou upon earth: therefore let thy words be few. %%% Akamwako tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi: kale ebigambo byo bibeerenga bitono. 21ECC005.003 For a dream cometh through the multitude of business; and a fool's voice is known by multitude of words. %%% Kubanga ekirooto kijjira wamu n'olufulube lw'emirimu; n'eddoboozi ly'omusirusiru lijjira wamu n'olufulube lw'ebigambo. 21ECC005.004 When thou vowest a vow unto God, defer not to pay it; for he hath no pleasure in fools: pay that which thou hast vowed. %%% Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama. 21ECC005.005 Better is it that thou shouldest not vow, than that thou shouldest vow and not pay. %%% Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n'olema okusasula. 21ECC005.006 Suffer not thy mouth to cause thy flesh to sin; neither say thou before the angel, that it was an error: wherefore should God be angry at thy voice, and destroy the work of thine hands? %%% Toganyanga kamwa ko okwonoonyesa omubiri gwo; so toyogeranga mu maaso ga malayika nga kwali kusobya: Katonda kiki ekinaaba kimusunguwaliza eddoboozi lyo, n'azikiriza omulimu ogw'emikono gyo? 21ECC005.007 For in the multitude of dreams and many words there are also divers vanities: but fear thou God. %%% Kubanga bwe kituukirira bwe kityo olw'olufulube lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi: naye ggwe otyanga Katonda. 21ECC005.008 If thou seest the oppression of the poor, and violent perverting of judgment and justice in a province, marvel not at the matter: for he that is higher than the highest regardeth; and there be higher than they. %%% Bw'onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga balya ensonga olw'amaanyi ne banyoola omusango mu ssaza, teweewuunyanga kigambo ekyo: kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu. 21ECC005.009 Moreover the profit of the earth is for all: the king himself is served by the field. %%% Nate ekyengera eky'ettaka kiba kya bonna: kabaka yennyini ennimiro emuweereza. 21ECC005.010 He that loveth silver shall not be satisfied with silver; nor he that loveth abundance with increase: this is also vanity. %%% Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga: era n'ekyo butaliimu. 21ECC005.011 When goods increase, they are increased that eat them: and what good is there to the owners thereof, saving the beholding of them with their eyes? %%% Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera: kale magoba ki nannyini byo g'afuna, wabula okubiraba obulabi n'amaaso ge? 21ECC005.012 The sleep of a labouring man is sweet, whether he eat little or much: but the abundance of the rich will not suffer him to sleep. %%% Otulo otw'omukozi w'emirimu tumuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw'omugagga tegumuganya kwebaka. 21ECC005.013 There is a sore evil which I have seen under the sun, namely, riches kept for the owners thereof to their hurt. %%% Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w'eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw'akuuma ne yeerumya yekka: 21ECC005.014 But those riches perish by evil travail: and he begetteth a son, and there is nothing in his hand. %%% obugagga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw'aba ng'azadde omwana, nga temuli kintu mu mukono gwe. 21ECC005.015 As he came forth of his mother's womb, naked shall he return to go as he came, and shall take nothing of his labour, which he may carry away in his hand. %%% Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe. 21ECC005.016 And this also is a sore evil, that in all points as he came, so shall he go: and what profit hath he that hath laboured for the wind? %%% Era n'ekyo kibi kinene, ng'aligenda ng'ali bw'atyo mu bigambo byonna era; nga bwe yajja: era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira mpewo? 21ECC005.017 All his days also he eateth in darkness, and he hath much sorrow and wrath with his sickness. %%% Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era yeeraliikirira nnyo, era abaako endwadde n'obusungu. 21ECC005.018 Behold that which I have seen: it is good and comely for one to eat and to drink, and to enjoy the good of all his labour that he taketh under the sun all the days of his life, which God giveth him: for it is his portion. %%% Laba, ekyo kye nnalaba nga kye kiwooma kye kisaana kye kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna kw'ategana wansi w'enjuba ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bwe yamuwa: kubanga ogwo gwe mugabo gwe. 21ECC005.019 Every man also to whom God hath given riches and wealth, and hath given him power to eat thereof, and to take his portion, and to rejoice in his labour; this is the gift of God. %%% Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde obuyinza okulyangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda. 21ECC005.020 For he shall not much remember the days of his life; because God answereth him in the joy of his heart. %%% Kubanga talijjukira nnyo ennaku ez'obulamu bwe; kubanga Katonda amuddamu olw'okusanyuka kw'omutima gwe. 21ECC006.001 There is an evil which I have seen under the sun, and it is common among men: %%% Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, era kizitoowerera abantu: 21ECC006.002 A man to whom God hath given riches, wealth, and honour, so that he wanteth nothing for his soul of all that he desireth, yet God giveth him not power to eat thereof, but a stranger eateth it: this is vanity, and it is an evil disease. %%% omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi. 21ECC006.003 If a man beget an hundred children, and live many years, so that the days of his years be many, and his soul be not filled with good, and also that he have no burial; I say, that an untimely birth is better than he. %%% Omuntu bw'azaala abaana kikumi, n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo: 21ECC006.004 For he cometh in with vanity, and departeth in darkness, and his name shall be covered with darkness. %%% kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza; 21ECC006.005 Moreover he hath not seen the sun, nor known any thing: this hath more rest than the other. %%% nate talabanga njuba so tagimanyanga; ono ye aba n'okuwummula okusinga oyo: 21ECC006.006 Yea, though he live a thousand years twice told, yet hath he seen no good: do not all go to one place? %%% weewaawo, newakubadde ng'awangaala emyaka lukumi emirundi ebiri, naye n'atasanyukira birungi: bonna tebadde mu kifo kimu? 21ECC006.007 All the labour of man is for his mouth, and yet the appetite is not filled. %%% Okutegana kwonna okw'omuntu kuba kwa kamwa ke, era naye okwegomba tekukkuta. 21ECC006.008 For what hath the wise more than the fool? what hath the poor, that knoweth to walk before the living? %%% Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? oba omwavu alina ki, amanyi okutambulira mu 0maaso g'abalamu? 21ECC006.009 Better is the sight of the eyes than the wandering of the desire: this is also vanity and vexation of spirit. %%% Okulaba n'amaaso kwe kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba: era n’ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. 21ECC006.010 That which hath been is named already, and it is known that it is man: neither may he contend with him that is mightier than he. %%% Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu: so tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi. 21ECC006.011 Seeing there be many things that increase vanity, what is man the better? %%% Kubanga waliwo ebintu bingi ebyongera ku butaliimu, omuntu yeeyongera ki okugasa? 21ECC006.012 For who knoweth what is good for man in this life, all the days of his vain life which he spendeth as a shadow? for who can tell a man what shall be after him under the sun? %%% Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? kubanga ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabnga oluvannyuma lwe wansi w'enjuba? 21ECC007.001 A good name is better than precious ointment; and the day of death than the day of one's birth. %%% Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu. 21ECC007.002 It is better to go to the house of mourning, than to go to the house of feasting: for that is the end of all men; and the living will lay it to his heart. %%% Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe. 21ECC007.003 Sorrow is better than laughter: for by the sadness of the countenance the heart is made better. %%% Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busannyusa omutima. 21ECC007.004 The heart of the wise is in the house of mourning; but the heart of fools is in the house of mirth. %%% Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu. 21ECC007.005 It is better to hear the rebuke of the wise, than for a man to hear the song of fools. %%% Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru. 21ECC007.006 For as the crackling of thorns under a pot, so is the laughter of the fool: this also is vanity. %%% Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n'ezo butaliimu 21ECC007.007 Surely oppression maketh a wise man mad; and a gift destroyeth the heart. %%% Mazima obukamuzi bufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera. 21ECC007.008 Better is the end of a thing than the beginning thereof: and the patient in spirit is better than the proud in spirit. %%% Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala. 21ECC007.009 Be not hasty in thy spirit to be angry: for anger resteth in the bosom of fools. %%% Toyangayirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru. 21ECC007.010 Say not thou, What is the cause that the former days were better than these? for thou dost not enquire wisely concerning this. %%% Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi. 21ECC007.011 Wisdom is good with an inheritance: and by it there is profit to them that see the sun. %%% Amagezi genkana obulungi obusika: weewaawo, gasinga okuwooma eri abo abalaba enjuba. 21ECC007.012 For wisdom is a defence, and money is a defence: but the excellency of knowledge is, that wisdom giveth life to them that have it. %%% Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga annagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go. 21ECC007.013 Consider the work of God: for who can make that straight, which he hath made crooked? %%% Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola? 21ECC007.014 In the day of prosperity be joyful, but in the day of adversity consider: God also hath set the one over against the other, to the end that man should find nothing after him. %%% Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw'okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g'olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna e.kiriba oluvannyuma lwe. 21ECC007.015 All things have I seen in the days of my vanity: there is a just man that perisheth in his righteousness, and there is a wicked man that prolongeth his life in his wickedness. %%% Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe. 21ECC007.016 Be not righteous over much; neither make thyself over wise: why shouldest thou destroy thyself ? %%% Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza? 21ECC007.017 Be not over much wicked, neither be thou foolish: why shouldest thou die before thy time? %%% Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru: lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka? 21ECC007.018 It is good that thou shouldest take hold of this; yea, also from this withdraw not thine hand: for he that feareth God shall come forth of them all. %%% Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna. 21ECC007.019 Wisdom strengtheneth the wise more than ten mighty men which are in the city. %%% Amagezi maanyi eri omugezigezi okusinga abafuga kkumi abali mu kibuga. 21ECC007.020 For there is not a just man upon earth, that doeth good, and sinneth not. %%% Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona. 21ECC007.021 Also take no heed unto all words that are spoken; lest thou hear thy servant curse thee: %%% Era tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira: 21ECC007.022 For oftentimes also thine own heart knoweth that thou thyself likewise hast cursed others. %%% kubanga emirundi mingi omutima gwo ggwe nagwo gumanyi nga naawe bw'otyo wakolimira abalala. 21ECC007.023 All this have I proved by wisdom: I said, I will be wise; but it was far from me. %%% Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala. 21ECC007.024 That which is far off, and exceeding deep, who can find it out? %%% Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebeera? 21ECC007.025 I applied mine heart to know, and to search, and to seek out wisdom, and the reason of things, and to know the wickedness of folly, even of foolishness and madness: %%% Nakyuka, omutima gwange ne ngukakasa okumanyanga n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, era ng'obusirusiru ddalu: 21ECC007.026 And I find more bitter than death the woman, whose heart is snares and nets, and her hands as bands: whoso pleaseth God shall escape from her; but the sinner shall be taken by her. %%% era ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi, omutima gwe byambika n'ebitimba; n'emikono gye giri ng'enjegere: buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye. 21ECC007.027 Behold, this have I found, saith the preacher, counting one by one, to find out the account: %%% Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga: 21ECC007.028 Which yet my soul seeketh, but I find not: one man among a thousand have I found; but a woman among all those have I not found. %%% emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga. 21ECC007.029 Lo, this only have I found, that God hath made man upright; but they have sought out many inventions. %%% Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja. 21ECC008.001 Who is as the wise man? and who knoweth the interpretation of a thing? a man's wisdom maketh his face to shine, and the boldness of his face shall be changed. %%% Ani ali ng'omugezigezi? era ani amanyi ekigambo bwe kitegeezebwa? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa. 21ECC008.002 I counsel thee to keep the king's commandment, and that in regard of the oath of God. %%% Nkuweerera ebigambo, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw'otyo olw'ekirayiro kya Katonda: 21ECC008.003 Be not hasty to go out of his sight: stand not in an evil thing; for he doeth whatsoever pleaseth him. %%% Toyanguyirizanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibi: kubanga akola buli ky'ayagala. 21ECC008.004 Where the word of a king is, there is power: and who may say unto him, What doest thou? %%% Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti Okola ki? 21ECC008.005 Whoso keepeth the commandment shall feel no evil thing: and a wise man's heart discerneth both time and judgment. %%% Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'Omuntu omugezigezi gwawula ekiseera n'okuteesa: 21ECC008.006 Because to every purpose there is time and judgment, therefore the misery of man is great upon him. %%% kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo: 21ECC008.007 For he knoweth not that which shall be: for who can tell him when it shall be? %%% kubanga tamanyi ekiribaawo: kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba? 21ECC008.008 There is no man that hath power over the spirit to retain the spirit; neither hath he power in the day of death: and there is no discharge in that war; neither shall wickedness deliver those that are given to it. %%% Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa: so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera. 21ECC008.009 All this have I seen, and applied my heart unto every work that is done under the sun: there is a time wherein one man ruleth over another to his own hurt. %%% Ebyo byonna nabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi. 21ECC008.010 And so I saw the wicked buried, who had come and gone from the place of the holy, and they were forgotten in the city where they had so done: this is also vanity. %%% Era nate nalaba ababi nga babaziika, ne bajja eri entaana; n'abo abaakolanga eby'ensonga ne bagenda nga bava mu kifo ekitukuvu, ne beerabirwa mu kibuga: era n'ekyo butaliimu. 21ECC008.011 Because sentence against an evil work is not executed speedily, therefore the heart of the sons of men is fully set in them to do evil. %%% Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi. 21ECC008.012 Though a sinner do evil an hundred times, and his days be prolonged, yet surely I know that it shall be well with them that fear God, which fear before him: %%% Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kkumi n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda banaabanga bulungi, abatya mu masso ge: 21ECC008.013 But it shall not be well with the wicked, neither shall he prolong his days, which are as a shadow; because he feareth not before God. %%% naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nnyingi eziri ng'ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso ga Katonda. 21ECC008.014 There is a vanity which is done upon the earth; that there be just men, unto whom it happeneth according to the work of the wicked; again, there be wicked men, to whom it happeneth according to the work of the righteous: I said that this also is vanity. %%% Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw'ababi; naye waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw'abatuukirivu: ne njogera nga n'ekyo butaliimu. 21ECC008.015 Then I commended mirth, because a man hath no better thing under the sun, than to eat, and to drink, and to be merry: for that shall abide with him of his labour the days of his life, which God giveth him under the sun. %%% Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga: kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba. 21ECC008.016 When I applied mine heart to know wisdom, and to see the business that is done upon the earth: (for also there is that neither day nor night seeth sleep with his eyes:) %%% Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi: (kubanga waliwo era atafuna tulo mu maaso ge emisana n'ekiro:) 21ECC008.017 Then I beheld all the work of God, that a man cannot find out the work that is done under the sun: because though a man labour to seek it out, yet he shall not find it; yea farther; though a wise man think to know it, yet shall he not be able to find it. %%% awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda; omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba. 21ECC009.001 For all this I considered in my heart even to declare all this, that the righteous, and the wise, and their works, are in the hand of God: no man knoweth either love or hatred by all that is before them. %%% Kubanga ebyo byonna nabiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda: oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi: byonna biri mu mberi yaabwe. 21ECC009.002 All things come alike to all: there is one event to the righteous, and to the wicked; to the good and to the clean, and to the unclean; to him that sacrificeth, and to him that sacrificeth not: as is the good, so is the sinner; and he that sweareth, as he that feareth an oath. %%% Byonna byenkana okujjira bonna: waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri omulongoofu n'eri atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka: ng'omulungi bw'ali, alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro. 21ECC009.003 This is an evil among all things that are done under the sun, that there is one event unto all: yea, also the heart of the sons of men is full of evil, and madness is in their heart while they live, and after that they go to the dead. %%% Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna: weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu. 21ECC009.004 For to him that is joined to all the living there is hope: for a living dog is better than a dead lion. %%% Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu bonna waliwo essuubi: kubanga embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi. 21ECC009.005 For the living know that they shall die: but the dead know not any thing, neither have they any more a reward; for the memory of them is forgotten. %%% Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa. 21ECC009.006 Also their love, and their hatred, and their envy, is now perished; neither have they any more a portion for ever in any thing that is done under the sun. %%% Okwagala kwabwe kwenkana n'okukyawa n'obuggya bwabwe okuzikirira kaakano: so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba. 21ECC009.007 Go thy way, eat thy bread with joy, and drink thy wine with a merry heart; for God now accepteth thy works. %%% Weegenderenga, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omutima ogujaguza; kubanga Katonda amaze okukkiriza emirimu gyo. 21ECC009.008 Let thy garments be always white; and let thy head lack no ointment. %%% Ebyambalo byo bitukulenga enaaku zonna; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta. 21ECC009.009 Live joyfully with the wife whom thou lovest all the days of the life of thy vanity, which he hath given thee under the sun, all the days of thy vanity: for that is thy portion in this life, and in thy labour which thou takest under the sun. %%% Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu: kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba. 21ECC009.010 Whatsoever thy hand findeth to do, do it with thy might; for there is no work, nor device, nor knowledge, nor wisdom, in the grave, whither thou goest. %%% Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda. 21ECC009.011 I returned, and saw under the sun, that the race is not to the swift, nor the battle to the strong, neither yet bread to the wise, nor yet riches to men of understanding, nor yet favour to men of skill; but time and chance happeneth to them all. %%% Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba ng'ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo. 21ECC009.012 For man also knoweth not his time: as the fishes that are taken in an evil net, and as the birds that are caught in the snare; so are the sons of men snared in an evil time, when it falleth suddenly upon them. %%% Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye: ng'ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde. 21ECC009.013 This wisdom have I seen also under the sun, and it seemed great unto me: %%% Era nalaba amagezi wansi w'enjuba bwe ntyo; ne gafaanana mangi gye ndi: 21ECC009.014 There was a little city, and few men within it; and there came a great king against it, and besieged it, and built great bulwarks against it: %%% waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako amakomera amanene: 21ECC009.015 Now there was found in it a poor wise man, and he by his wisdom delivered the city; yet no man remembered that same poor man. %%% awo ne walabika omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu. 21ECC009.016 Then said I, Wisdom is better than strength: nevertheless the poor man's wisdom is despised, and his words are not heard. %%% Kale ne njogera nti Amagezi gasinga amaanyi obulungi: era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira. 21ECC009.017 The words of wise men are heard in quiet more than the cry of him that ruleth among fools. %%% Ebigambo eby'abagezigezi ebyogerwa akasirise babiwulira okusinga okuleekaana kw'oyo afugira mu basirusiru. 21ECC009.018 Wisdom is better than weapons of war: but one sinner destroyeth much good. %%% Amagezi gasinga ebyokulwanyisa: naye omu alina ebibi azikiriza ebirungi bingi. 21ECC010.001 Dead flies cause the ointment of the apothecary to send forth a stinking savour: so doth a little folly him that is in reputation for wisdom and honour. %%% Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa: bwe kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa. 21ECC010.002 A wise man's heart is at his right hand; but a fool's heart at his left. %%% Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono. 21ECC010.003 Yea also, when he that is a fool walketh by the way, his wisdom faileth him, and he saith to every one that he is a fool. %%% Era, weewaawo, omusirusiru bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwaako, n'agamba buli muntu nga musirusiru. 21ECC010.004 If the spirit of the ruler rise up against thee, leave not thy place; for yielding pacifieth great offences. %%% Omwoyo gw'omukulu bwe gukugolokokerako, tovanga mu kifo kyo; kubanga okwemenya kukkakkanya okunyiiga okungi. 21ECC010.005 There is an evil which I have seen under the sun, as an error which proceedeth from the ruler: %%% Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, ekiri ng'okusobya okuva eri omukulu: 21ECC010.006 Folly is set in great dignity, and the rich sit in low place. %%% obusirusiru aga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi 21ECC010.007 I have seen servants upon horses, and princes walking as servants upon the earth. %%% Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka. 21ECC010.008 He that diggeth a pit shall fall into it; and whoso breaketh an hedge, a serpent shall bite him. %%% Asima obunnya aiibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimuluma. 21ECC010.009 Whoso removeth stones shall be hurt therewith; and he that cleaveth wood shall be endangered thereby. %%% Buli asimula amayinja galimuluma; n'oyo ayasa enku zimuleetera akabi. 21ECC010.010 If the iron be blunt, and he do not whet the edge, then must he put to more strength: but wisdom is profitable to direct. %%% Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okussaako amaanyi: naye amagezi gagasa okuluŋŋamya. 21ECC010.011 Surely the serpent will bite without enchantment; and a babbler is no better. %%% Omusota bwe guluma nga tegunnalogebwa, kale omulogo taliiko ky'agasa. 21ECC010.012 The words of a wise man's mouth are gracious; but the lips of a fool will swallow up himself. %%% Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimira ye yennyini. 21ECC010.013 The beginning of the words of his mouth is foolishness: and the end of his talk is mischievous madness. %%% Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru: n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi. 21ECC010.014 A fool also is full of words: a man cannot tell what shall be; and what shall be after him, who can tell him? %%% Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamanyi ebiribaawo; n'ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okumubuulira? 21ECC010.015 The labour of the foolish wearieth every one of them, because he knoweth not how to go to the city. %%% Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga. 21ECC010.016 Woe to thee, O land, when thy king is a child, and thy princes eat in the morning! %%% Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, abakulu bo ne balya enkya! 21ECC010.017 Blessed art thou, O land, when thy king is the son of nobles, and thy princes eat in due season, for strength, and not for drunkenness! %%% Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo baliira, mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira! 21ECC010.018 By much slothfulness the building decayeth; and through idleness of the hands the house droppeth through. %%% Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya. 21ECC010.019 A feast is made for laughter, and wine maketh merry: but money answereth all things. %%% Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu: ne ffeeza eyanukulira byonna. 21ECC010.020 Curse not the king, no not in thy thought; and curse not the rich in thy bedchamber: for a bird of the air shall carry the voice, and that which hath wings shall tell the matter. %%% Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula: kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo. 21ECC011.001 Cast thy bread upon the waters: for thou shalt find it after many days. %%% Suulanga emmere yo ku mazzi: kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo. 21ECC011.002 Give a portion to seven, and also to eight; for thou knowest not what evil shall be upon the earth. %%% Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi. 21ECC011.003 If the clouds be full of rain, they empty themselves upon the earth: and if the tree fall toward the south, or toward the north, in the place where the tree falleth, there it shall be. %%% Ebire bwe bijjula enkuba, ne biyiika ku nsi: n'omuti bwe gugwa okwolekera obukiika obwa ddyo oba obwa kkono, mu kifo omuti mwe gugwa we gulibeera. 21ECC011.004 He that observeth the wind shall not sow; and he that regardeth the clouds shall not reap. %%% Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula. 21ECC011.005 As thou knowest not what is the way of the spirit, nor how the bones do grow in the womb of her that is with child: even so thou knowest not the works of God who maketh all. %%% Nga bw’otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna. 21ECC011.006 In the morning sow thy seed, and in the evening withhold not thine hand: for thou knowest not whether shall prosper, either this or that, or whether they both shall be alike good. %%% Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi. 21ECC011.007 Truly the light is sweet, and a pleasant thing it is for the eyes to behold the sun: %%% Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba. 21ECC011.008 But if a man live many years, and rejoice in them all; yet let him remember the days of darkness; for they shall be many. All that cometh is vanity. %%% Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu. 21ECC011.009 Rejoice, O young man, in thy youth; and let thy heart cheer thee in the days of thy youth, and walk in the ways of thine heart, and in the sight of thine eyes: but know thou, that for all these things God will bring thee into judgment. %%% Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go: naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna. 21ECC011.010 Therefore remove sorrow from thy heart, and put away evil from thy flesh: for childhood and youth are vanity. %%% Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo: kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu. 21ECC012.001 Remember now thy Creator in the days of thy youth, while the evil days come not, nor the years draw nigh, when thou shalt say, I have no pleasure in them; %%% Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti Sigisanyukira n'akamu; 21ECC012.002 While the sun, or the light, or the moon, or the stars, be not darkened, nor the clouds return after the rain: %%% enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng'emaze okutonnya. 21ECC012.003 In the day when the keepers of the house shall tremble, and the strong men shall bow themselves, and the grinders cease because they are few, and those that look out of the windows be darkened, %%% ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa, 21ECC012.004 And the doors shall be shut in the streets, when the sound of the grinding is low, and he shall rise up at the voice of the bird, and all the daughters of musick shall be brought low; %%% enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa; 21ECC012.005 Also when they shall be afraid of that which is high, and fears shall be in the way, and the almond tree shall flourish, and the grasshopper shall be a burden, and desire shall fail: because man goeth to his long home, and the mourners go about the streets: %%% weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n’ejjaazi lirizitowa, ne piripiri aliggwaawo: kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo: 21ECC012.006 Or ever the silver cord be loosed, or the golden bowl be broken, or the pitcher be broken at the fountain, or the wheel broken at the cistern. %%% omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba; 21ECC012.007 Then shall the dust return to the earth as it was: and the spirit shall return unto God who gave it. %%% enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba. 21ECC012.008 Vanity of vanities, saith the preacher; all is vanity. %%% Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu. 21ECC012.009 And moreover, because the preacher was wise, he still taught the people knowledge; yea, he gave good heed, and sought out, and set in order many proverbs. %%% Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi. 21ECC012.010 The preacher sought to find out acceptable words: and that which was written was upright, even words of truth. %%% Omubuulzi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n'ebyo ebyawandiikibwa n'obugolokofu, bye bigambo eby'amazima. 21ECC012.011 The words of the wise are as goads, and as nails fastened by the masters of assemblies, which are given from one shepherd. %%% Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu. 21ECC012.012 And further, by these, my son, be admonished: of making many books there is no end; and much study is a weariness of the flesh. %%% Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri. 21ECC012.013 Let us hear the conclusion of the whole matter: Fear God, and keep his commandments: for this is the whole duty of man. %%% Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu. 21ECC012.014 For God shall bring every work into judgment, with every secret thing, whether it be good, or whether it be evil. %%% Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi. 22SOS001.001 The song of songs, which is Solomon's. %%% Oluyimba olusinga ennyimba, lwe lwa Sulemaani 22SOS001.002 Let him kiss me with the kisses of his mouth: for thy love is better than wine. %%% Annywegere n'okunywegera kw'akamwa ke: Kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi. 22SOS001.003 Because of the savour of thy good ointments thy name is as ointment poured forth, therefore do the virgins love thee. %%% Amafuta go gawunya akaloosa; Erinnya lyo liringanga amafuta agafukibwa; Abawala abatamanyi musajja kyebava bakwagala. 22SOS001.004 Draw me, we will run after thee: the king hath brought me into his chambers: we will be glad and rejoice in thee, we will remember thy love more than wine: the upright love thee. %%% Mpalula tunaakugoberera mbiro: Kabaka annyingizizza mu bisenge bye: Tunaakusanyukira ne tujaguza, Okwagala kwo tunaakwogerako okusinga omwenge: Bakwagala lwa nsonga. 22SOS001.005 I am black, but comely, O ye daughters of Jerusalem, as the tents of Kedar, as the curtains of Solomon. %%% Ndi muddugavu, naye mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi, Ng'eweema ez'e Kedali. Ng'amagigi ga Sulemaani. 22SOS001.006 Look not upon me, because I am black, because the sun hath looked upon me: my mother's children were angry with me; they made me the keeper of the vineyards; but mine own vineyard have I not kept. %%% Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu. Kubanga omusana gunjokezza. Abaana ba mmange bansuguwalira, Banfuula omukuumi w'ensuku ez'emizabbibu; Naye olusuku lwange nze saalukuuma. 22SOS001.007 Tell me, O thou whom my soul loveth, where thou feedest, where thou makest thy flock to rest at noon: for why should I be as one that turneth aside by the flocks of thy companions? %%% Mbuulira, ggwe emmeeme yange gw'eyagala, Gy'oliisiza ekisibo kyo, gy'okigalamiriza mu ttuntu; Kubanga nandibeeredde ki ng'ayambadde ekibikka ku maaso Awali ebisibo bya banno? 22SOS001.008 If thou know not, O thou fairest among women, go thy way forth by the footsteps of the flock, and feed thy kids beside the shepherds' tents. %%% Oba nga tomanyi, ggwe asinga abakazi bonna obulungi, Fuluma okwate ekkubo ogoberere ebigere by'endiga zo, Oliisize abaana b'embuzi zo awali eweema ez'abasumba. 22SOS001.009 I have compared thee, O my love, to a company of horses in Pharaoh's chariots. %%% Nkufaananyizza, ai muganzi wange, Embalaasi eri ku magaali ga Falaawo. 22SOS001.010 Thy cheeks are comely with rows of jewels, thy neck with chains of gold. %%% Amatama go malungi n'emivumbo emirange, Ensingo yo nnungi n'embu ez'eby'obuyonjo. 22SOS001.011 We will make thee borders of gold with studs of silver. %%% Tunaakukolera emivumbo egya zaabu N'amapeesa aga ffeeza. 22SOS001.012 While the king sitteth at his table, my spikenard sendeth forth the smell thereof. %%% Kabaka bwe yali ng'atudde ku mmeeza ye, Amafuta gange ag'omugavu ne gawunya akaloosa kaago. 22SOS001.013 A bundle of myrrh is my well-beloved unto me; he shall lie all night betwixt my breasts. %%% Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli, Oguteekebwa wakati w'amabeere gange. 22SOS001.014 My beloved is unto me as a cluster of camphire in the vineyards of Engedi. %%% Muganzi wange ali gye ndi ng'ekisaaganda ky'ebimuli ebya kofera Mu nsuku ez'emizabbibu ez'e Engedi. 22SOS001.015 Behold, thou art fair, my love; behold, thou art fair; thou hast doves' eyes. %%% Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba. 22SOS001.016 Behold, thou art fair, my beloved, yea, pleasant: also our bed is green. %%% Laba, oli mulungi, muganzi wange, weewaawo, wa kusanyusa: Era ekitanda kyaffe kya malagala mato. 22SOS001.017 The beams of our house are cedar, and our rafters of fir. %%% Emikiikiro gy'ennyumba yaffe mivule, N'enzooba zaffe nkanaga: 22SOS002.001 I am the rose of Sharon, and the lily of the valleys. %%% Nze ndi kimyula kya Saloni, Eddanga ery'omu biwonvu. 22SOS002.002 As the lily among thorns, so is my love among the daughters. %%% Ng'eddanga mu maggwa, Gwe njagala bw'ali bw'atyo mu bawala. 22SOS002.003 As the apple tree among the trees of the wood, so is my beloved among the sons. I sat down under his shadow with great delight, and his fruit was sweet to my taste. %%% Ng'omucungwa mu miti egy'omu kibira, Muganzi wange bw'ali bw'atyo mu balenzi. Natuula wansi w'ekisiikirize kye n'essanyu lingi, Ebibala bye ne biwoomera amatama gange. 22SOS002.004 He brought me to the banqueting house, and his banner over me was love. %%% Yannyingiza mu nju ey'okuliiramu embaga, Ne bendera ye eyali ku nze kwagala: 22SOS002.005 Stay me with flagons, comfort me with apples: for I am sick of love. %%% Munkwatirire n'ezabbibu enkalu, munsanyuse n'amacungwa; Kubanga okwagala kundwazizza. 22SOS002.006 His left hand is under my head, and his right hand doth embrace me. %%% Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w'omutwe gwange, N'omukono gwe ogwa ddyo gunkutte. 22SOS002.007 I charge you, O ye daughters of Jerusalem, by the roes, and by the hinds of the field, that ye stir not up, nor awake my love, till he please. %%% Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira. 22SOS002.008 The voice of my beloved! behold, he cometh leaping upon the mountains, skipping upon the hills. %%% Eddoboozi lya muganzi wange! laba, ajja, Ng'abuukirabuukira ku nsozi, ng'azinira ku busozi. 22SOS002.009 My beloved is like a roe or a young hart: behold, he standeth behind our wall, he looketh forth at the windows, shewing himself through the lattice. %%% Muganzi wange ali ng'empeewo oba ennangaazi ento: Laba ayimirira ennyuma w'olukomera lwaffe, Alingiza mu ddirisa, Yeeraga ng'alabikira mu mulimo ogulukibwa ogw'omu kituli. 22SOS002.010 My beloved spake, and said unto me, Rise up, my love, my fair one, and come away. %%% Muganzi wange yayogera n'aŋŋamba Nti Golokoka, gwe njagala, omulungi gye ndi, tugende tuveewo. 22SOS002.011 For, lo, the winter is past, the rain is over and gone; %%% Kubanga, laba, ttoggo aweddeko Enkuba eyise egenze; 22SOS002.012 The flowers appear on the earth; the time of the singing of birds is come, and the voice of the turtle is heard in our land; %%% Ebimuli birabise ku ttaka; Ebiro bituuse ennyonyi mwe ziyimbira, N'eddoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaffe; 22SOS002.013 The fig tree putteth forth her green figs, and the vines with the tender grape give a good smell. Arise, my love, my fair one, and come away. %%% Omutiini gwengeza ettiini zaagwo embisi, N'emizabbibu gimulisizza, Giwunya akaloosa kaagyo. Golokoka, gwe njagala, omulungi gye ndi, tugende tuveewo. 22SOS002.014 O my dove, that art in the clefts of the rock, in the secret places of the stairs, let me see thy countenance, let me hear thy voice; for sweet is thy voice, and thy countenance is comely. %%% Ai ejjiba lyange, abeera mu njatika ez'omu jjinja, mu bwekwekero obw'ebbanga, Ndabe amaaso go, mpulire eddoboozi lyo; Kubanga eddoboozi lyo ddungi n'amaaso go ga kusanyusa. 22SOS002.015 Take us the foxes, the little foxes, that spoil the vines: for our vines have tender grapes. %%% Mutukwatire ebibe, ebibe ebito ebyonoona ensuku ez'emizabbibu; Kubanga ensuku zaffe ez'emizabbibu zimulisizza. 22SOS002.016 My beloved is mine, and I am his: he feedeth among the lilies. %%% Muganzi wange wange, nange ndi wuwe: Aliisizza ekisibo kye mu malanga. 22SOS002.017 Until the day break, and the shadows flee away, turn, my beloved, and be thou like a roe or a young hart upon the mountains of Bether. %%% Okutuusa obudde nga bukedde ebisiikirize ne biddukira ddala, Kyuka, muganzi wange, obe ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi eza Beseri. 22SOS003.001 By night on my bed I sought him whom my soul loveth: I sought him, but I found him not. %%% Ekiro ku kitanda kyange nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala: Namunoonya naye ne ssimulaba. 22SOS003.002 I will rise now, and go about the city in the streets, and in the broad ways I will seek him whom my soul loveth: I sought him, but I found him not. %%% Ne njogera nti Naagolokoka kaakano ne ntambulatambula mu kibuga, Mu nguudo ne mu bifo ebigazi, Nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala: Namunoonya, naye ne ssimulaba . 22SOS003.003 The watchmen that go about the city found me: to whom I said, Saw ye him whom my soul loveth? %%% Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba: Ne mbagamba nti Mulabye oyo emmeeme yange gw'eyagala? 22SOS003.004 It was but a little that I passed from them, but I found him whom my soul loveth: I held him, and would not let him go, until I had brought him into my mother's house, and into the chamber of her that conceived me. %%% Nnali mbayiseeko katono, Ne ndaba oyo emmeeme yange gw'eyagala: Ne mmunyweza ne ssikkiriza kumuta, Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange, Ne mu kisenge ky'oyo anzaala. 22SOS003.005 I charge you, O ye daughters of Jerusalem, by the roes, and by the hinds of the field, that ye stir not up, nor awake my love, till he please. %%% Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira. 22SOS003.006 Who is this that cometh out of the wilderness like pillars of smoke, perfumed with myrrh and frankincense, with all powders of the merchant? %%% Ani ono ajja ng'alinnya ng'ava mu ddungu afaanana empagi ez'emikka, Asiigibwa eby'akaloosa ebya mooli n'omugavu, N'eddagala lyonna ery'omusuubuzi? 22SOS003.007 Behold his bed, which is Solomon's; threescore valiant men are about it, of the valiant of Israel. %%% Laba, ke kadyeri ka Sulemaani; Abasajja ab'amaanyi nkaaga bakeetoolodde, Ku basajja ab'amaanyi aba Isiraeri. 22SOS003.008 They all hold swords, being expert in war: every man hath his sword upon his thigh because of fear in the night. %%% Bonna bakwata ekitala, ba magezi okulwana: Buli muntu yeesiba ekitala kye mu kiwato, Olw'entiisa ekiro. 22SOS003.009 King Solomon made himself a chariot of the wood of Lebanon. %%% Kabaka Sulemaani yeekolera eggaali Ey'emiti egy'oku Lebanooni. 22SOS003.010 He made the pillars thereof of silver, the bottom thereof of gold, the covering of it of purple, the midst thereof being paved with love, for the daughters of Jerusalem. %%% Empagi zaayo yazikola za ffeeza. Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwa ffulungu, Wakati waayo nga waalire n'okwagala, Okuva eri abawala ba Yerusaalemi. 22SOS003.011 Go forth, O ye daughters of Zion, and behold king Solomon with the crown wherewith his mother crowned him in the day of his espousals, and in the day of the gladness of his heart. %%% Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mutunuulire kabaka Sulemaani, Ng'alina engule nnyina gy'amutikkiridde ku lunaku kw'afumbiriddwa, Era ku lunaku omutima gwe kwe gusanyukira. 22SOS004.001 Behold, thou art fair, my love; behold, thou art fair; thou hast doves' eyes within thy locks: thy hair is as a flock of goats, that appear from mount Gilead. %%% Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba ennyuma w'olugoye lw'ogabisseeko: Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamidde ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi. 22SOS004.002 Thy teeth are like a flock of sheep that are even shorn, which came up from the washing; whereof every one bear twins, and none is barren among them. %%% Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu. 22SOS004.003 Thy lips are like a thread of scarlet, and thy speech is comely: thy temples are like a piece of a pomegranate within thy locks. %%% Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaavu, N'akamwa ko kalungi: Ekyenyi kyo kiri ng'ekitundu ky'ekkomamawanga Ennyuma w'olugoye lw'obisse ku maaso. 22SOS004.004 Thy neck is like the tower of David builded for an armoury, whereon there hang a thousand bucklers, all shields of mighty men. %%% Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu ebyokulwanyisa, Omuwanikibwa engabo olukumi, Engabo zonna ez'abasajja ab'amaanyi. 22SOS004.005 Thy two breasts are like two young roes that are twins, which feed among the lilies. %%% Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga. 22SOS004.006 Until the day break, and the shadows flee away, I will get me to the mountain of myrrh, and to the hill of frankincense. %%% Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, Neegendera eri olusozi olwa mooli. N'eri akosozi ak'omugavu. 22SOS004.007 Thou art all fair, my love; there is no spot in thee. %%% Oli mulungi wenna, gwe njagala; So ku ggwe tekuli bbala. 22SOS004.008 Come with me from Lebanon, my spouse, with me from Lebanon: look from the top of Amana, from the top of Shenir and Hermon, from the lions' dens, from the mountains of the leopards. %%% Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange, Ffembi okuva ku Lebanooni: Lengera ng'oyima ku ntikko ya Amana, Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni, Ng'oyima awali empuku ey'empologoma, Ku nsozi ez'engo. 22SOS004.009 Thou hast ravished my heart, my sister, my spouse; thou hast ravished my heart with one of thine eyes, with one chain of thy neck. %%% Osanyusizza omutima gwange mwannyinaze, mugole wange Osanyusizza omutima gwange n'eriiso lyo erimu, N'omukuufu ogumu ogw'omu bulago bwo. 22SOS004.010 How fair is thy love, my sister, my spouse! how much better is thy love than wine! and the smell of thine ointments than all spices! %%% Okwagala kwo nga kulungi mwannyinaze, mugole wange Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi! 22SOS004.011 Thy lips, O my spouse, drop as the honeycomb: honey and milk are under thy tongue; and the smell of thy garments is like the smell of Lebanon. %%% Emimwa gyo, ai mugole wange, gitonnya ag'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'okuwunya kw'ebyambalo byo kuli ng'okuwunya kwa Lebanooni. 22SOS004.012 A garden inclosed is my sister, my spouse; a spring shut up, a fountain sealed. %%% Mwannyinaze, mugole wange, lwe lusuku olwasibibwa; Lwe luzzi olwasibibwa, ye nsulo eyateekebwako akabonero. 22SOS004.013 Thy plants are an orchard of pomegranates, with pleasant fruits; camphire, with spikenard, %%% Ebimera byo lusuku lwa mikomamawanga, olulina ebibala eby'omuwendo omungi; Kofera n'emiti egy'omugavu: 22SOS004.014 Spikenard and saffron; calamus and cinnamon, with all trees of frankincense; myrrh and aloes, with all the chief spices: %%% Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akalosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi. 22SOS004.015 A fountain of gardens, a well of living waters, and streams from Lebanon. %%% Ggwe nsulo y'ennimiro, Oluzzi olw'amazzi amalamu, Era emigga egikulukuta egiva ku Lebanooni. 22SOS004.016 Awake, O north wind; and come, thou south; blow upon my garden, that the spices thereof may flow out. Let my beloved come into his garden, and eat his pleasant fruits. %%% Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva obukiika obwa kkono; nammwe mujje, ez’obukiika obwa ddyo: Mukuntire ku nnimiro yange, eby’akaloosa ebyamu bikulukute. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye; Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi. 22SOS005.001 I am come into my garden, my sister, my spouse: I have gathered my myrrh with my spice; I have eaten my honeycomb with my honey; I have drunk my wine with my milk: eat, O friends; drink, yea, drink abundantly, O beloved. %%% I am come into my garden, my sister, my spouse: I have gathered my myrrh with my spice; I have eaten my honeycomb with my honey; I have drunk my wine with my milk: eat, O friends; drink, yea, drink abundantly, O beloved. 22SOS005.002 I sleep, but my heart waketh: it is the voice of my beloved that knocketh, saying, Open to me, my sister, my love, my dove, my undefiled: for my head is filled with dew, and my locks with the drops of the night. %%% I sleep, but my heart waketh: it is the voice of my beloved that knocketh, saying, Open to me, my sister, my love, my dove, my undefiled: for my head is filled with dew, and my locks with the drops of the night. 22SOS005.003 I have put off my coat; how shall I put it on? I have washed my feet; how shall I defile them? %%% I have put off my coat; how shall I put it on? I have washed my feet; how shall I defile them? 22SOS005.004 My beloved put in his hand by the hole of the door, and my bowels were moved for him. %%% My beloved put in his hand by the hole of the door, and my bowels were moved for him. 22SOS005.005 I rose up to open to my beloved; and my hands dropped with myrrh, and my fingers with sweet smelling myrrh, upon the handles of the lock. %%% I rose up to open to my beloved; and my hands dropped with myrrh, and my fingers with sweet smelling myrrh, upon the handles of the lock. 22SOS005.006 I opened to my beloved; but my beloved had withdrawn himself, and was gone: my soul failed when he spake: I sought him, but I could not find him; I called him, but he gave me no answer. %%% I opened to my beloved; but my beloved had withdrawn himself, and was gone: my soul failed when he spake: I sought him, but I could not find him; I called him, but he gave me no answer. 22SOS005.007 The watchmen that went about the city found me, they smote me, they wounded me; the keepers of the walls took away my veil from me. %%% The watchmen that went about the city found me, they smote me, they wounded me; the keepers of the walls took away my veil from me. 22SOS005.008 I charge you, O daughters of Jerusalem, if ye find my beloved, that ye tell him, that I am sick of love. %%% I charge you, O daughters of Jerusalem, if ye find my beloved, that ye tell him, that I am sick of love. 22SOS005.009 What is thy beloved more than another beloved, O thou fairest among women? what is thy beloved more than another beloved, that thou dost so charge us? %%% What is thy beloved more than another beloved, O thou fairest among women? what is thy beloved more than another beloved, that thou dost so charge us? 22SOS005.010 My beloved is white and ruddy, the chiefest among ten thousand. %%% My beloved is white and ruddy, the chiefest among ten thousand. 22SOS005.011 His head is as the most fine gold, his locks are bushy, and black as a raven. %%% His head is as the most fine gold, his locks are bushy, and black as a raven. 22SOS005.012 His eyes are as the eyes of doves by the rivers of waters, washed with milk, and fitly set. %%% His eyes are as the eyes of doves by the rivers of waters, washed with milk, and fitly set. 22SOS005.013 His cheeks are as a bed of spices, as sweet flowers: his lips like lilies, dropping sweet smelling myrrh. %%% His cheeks are as a bed of spices, as sweet flowers: his lips like lilies, dropping sweet smelling myrrh. 22SOS005.014 His hands are as gold rings set with the beryl: his belly is as bright ivory overlaid with sapphires. %%% His hands are as gold rings set with the beryl: his belly is as bright ivory overlaid with sapphires. 22SOS005.015 His legs are as pillars of marble, set upon sockets of fine gold: his countenance is as Lebanon, excellent as the cedars. %%% His legs are as pillars of marble, set upon sockets of fine gold: his countenance is as Lebanon, excellent as the cedars. 22SOS005.016 His mouth is most sweet: yea, he is altogether lovely. This is my beloved, and this is my friend, O daughters of Jerusalem. %%% His mouth is most sweet: yea, he is altogether lovely. This is my beloved, and this is my friend, O daughters of Jerusalem. 22SOS006.001 Whither is thy beloved gone, O thou fairest among women? whither is thy beloved turned aside? that we may seek him with thee. %%% Muganzi wo agenze wa, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo yeekyusiririzza wa, Tumunoonyeze wamu naawe? 22SOS006.002 My beloved is gone down into his garden, to the beds of spices, to feed in the gardens, and to gather lilies. %%% Muganzi wange aserengetedde mu nnimiro ye mu misiri egy'emiddo egy'akaloosa, Okuliira mu nnimiro, n'okunoga amalanga. 22SOS006.003 I am my beloved's, and my beloved is mine: he feedeth among the lilies. %%% Nze ndi wa muganzi wange, ne muganzi wange wange: Aliisa ekisibo kye mu malanga. 22SOS006.004 Thou art beautiful, O my love, as Tirzah, comely as Jerusalem, terrible as an army with banners. %%% Oli mulungi, ai gwe njagala, nga Tiruza, Owooma nga Yerusaalemi, Wa ntiisa ng'eggye eririna ebendera. 22SOS006.005 Turn away thine eyes from me, for they have overcome me: thy hair is as a flock of goats that appear from Gilead. %%% Nziyaako amaso go, Kubanga gampangudde. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamira ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi. 22SOS006.006 Thy teeth are as a flock of sheep which go up from the washing, whereof every one beareth twins, and there is not one barren among them. %%% Amannyo go,gali ng'eggana ly'endiga enkazi, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu. 22SOS006.007 As a piece of a pomegranate are thy temples within thy locks. %%% Ekyenyi kyo kiri ng'ekitundu ky'ekkomamawanga Ennyuma w'olugoye lw'obisse ku maaso. 22SOS006.008 There are threescore queens, and fourscore concubines, and virgins without number. %%% Waliwo bakabaka abakazi nkaaga, n'abazaana kinaana, N'abawala abatamanyi musajja abatabalika. 22SOS006.009 My dove, my undefiled is but one; she is the only one of her mother, she is the choice one of her that bare her. The daughters saw her, and blessed her; yea, the queens and the concubines, and they praised her. %%% Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ali omu yekka; Mwana wa nnyina omu yekka; Mulonde w'omukazi amuzaala. Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa; Bakabaka abakazi n'abazaana baamulaba ne bamutendereza. 22SOS006.010 Who is she that looketh forth as the morning, fair as the moon, clear as the sun, and terrible as an army with banners? %%% Ani oyo atunula ng'emmambya: Omulungi ng'omwezi, Atangalijja ng'enjuba, Ow'entiisa ng'eggye eririna ebendera? 22SOS006.011 I went down into the garden of nuts to see the fruits of the valley, and to see whether the vine flourished, and the pomegranates budded. %%% N'aserengetera mu nnimiro ey'emmere erimu emiramwa, Okulaba ebisimbe ebibisi eby'omu kiwonvu, Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza. 22SOS006.012 Or ever I was aware, my soul made me like the chariots of Amminadib. %%% Nga sinnamanya emmeeme yange ne nteeka Mu magaali g'abantu bange ab'ekikungu. 22SOS006.013 Return, return, O Shulamite; return, return, that we may look upon thee. What will ye see in the Shulamite? As it were the company of two armies. %%% Komawo, komawo, ggwe Omusulamu; Komawo, komawo, tukutunuulire. Kiki ekibaagaza okutunuulira Omusulamu, Ng'amazina ga Makanayimu? 22SOS007.001 How beautiful are thy feet with shoes, O prince's daughter! the joints of thy thighs are like jewels, the work of the hands of a cunning workman. %%% Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba. 22SOS007.002 Thy navel is like a round goblet, which wanteth not liquor: thy belly is like an heap of wheat set about with lilies. %%% Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, Omutabuze mwenge gwonna ogutabulwa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyonjebwa n'amalanga. 22SOS007.003 Thy two breasts are like two young roes that are twins. %%% Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo. 22SOS007.004 Thy neck is as a tower of ivory; thine eyes like the fishpools in Heshbon, by the gate of Bathrabbim: thy nose is as the tower of Lebanon which looketh toward Damascus. %%% Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go gali nga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu: Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko. 22SOS007.005 Thine head upon thee is like Carmel, and the hair of thine head like purple; the king is held in the galleries. %%% Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka emibumbo gyazo gimusiba. 22SOS007.006 How fair and how pleasant art thou, O love, for delights! %%% Ng'oli mulungi, ng'owoomerera, Ai gwe njagala, olw'okusanyusa! 22SOS007.007 This thy stature is like to a palm tree, and thy breasts to clusters of grapes. %%% Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu. 22SOS007.008 I said, I will go up to the palm tree, I will take hold of the boughs thereof: now also thy breasts shall be as clusters of the vine, and the smell of thy nose like apples; %%% Nayogera nti Naalinya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo: Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa; 22SOS007.009 And the roof of thy mouth like the best wine for my beloved, that goeth down sweetly, causing the lips of those that are asleep to speak. %%% N'akamwa ko ng'omwenge ogusinga obulungi, Ogumirwa obulungi oyo gwe njagala, nga guseeyeeya, Nga guyita mu mimwa gy'abo abeebase. 22SOS007.010 I am my beloved's, and his desire is toward me. %%% Nze ndi wa muganzi wange, N'okwegomba kwe kuli eri nze. 22SOS007.011 Come, my beloved, let us go forth into the field; let us lodge in the villages. %%% Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo. 22SOS007.012 Let us get up early to the vineyards; let us see if the vine flourish, whether the tender grape appear, and the pomegranates bud forth: there will I give thee my loves. %%% Tugende munsuku z'emizabbibu mu makya; Tulabe omuzabbibu oba nga giunulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange. 22SOS007.013 The mandrakes give a smell, and at our gates are all manner of pleasant fruits, new and old, which I have laid up for thee, O my beloved. %%% Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ai muganzi wange. 22SOS008.001 O that thou wert as my brother, that sucked the breasts of my mother! when I should find thee without, I would kiss thee; yea, I should not be despised. %%% Singa obadde nga muganda wange, Eyayonka amabeere ga mmange Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde; Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye. 22SOS008.002 I would lead thee, and bring thee into my mother's house, who would instruct me: I would cause thee to drink of spiced wine of the juice of my pomegranate. %%% Nandikulese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, Eyandinjigirizza; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, Ku mazzi g'ekkomamawanga lyange. 22SOS008.003 His left hand should be under my head, and his right hand should embrace me. %%% Omukono gwe ogwa kkono gwandibadde wansi w'omutwe gw'ange, N'omukono gwe ogwa ddyo gwandimpambaatidde. 22SOS008.004 I charge you, O daughters of Jerusalem, that ye stir not up, nor awake my love, until he please. %%% Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira. 22SOS008.005 Who is this that cometh up from the wilderness, leaning upon her beloved? I raised thee up under the apple tree: there thy mother brought thee forth: there she brought thee forth that bare thee. %%% Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala. 22SOS008.006 Set me as a seal upon thine heart, as a seal upon thine arm: for love is strong as death; jealousy is cruel as the grave: the coals thereof are coals of fire, which hath a most vehement flame. %%% Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe: Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okwa Mukama. 22SOS008.007 Many waters cannot quench love, neither can the floods drown it: if a man would give all the substance of his house for love, it would utterly be contemned. %%% Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta: Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Yandinyoomereddwa ddala. 22SOS008.008 We have a little sister, and she hath no breasts: what shall we do for our sister in the day when she shall be spoken for? %%% Tulina mwannyinaffe omuto, Era tannaba na mabeere: Tulimukola tutya mwannyinaffe Ku lunaku lwe balimwogererezaako? 22SOS008.009 If she be a wall, we will build upon her a palace of silver: and if she be a door, we will inclose her with boards of cedar. %%% Oba nga bbugwe, Tulimuzimbako ekigo kya ffeeza, Era oba nga luggi, Tulimubikkako embaawo ez'emivule. 22SOS008.010 I am a wall, and my breasts like towers: then was I in his eyes as one that found favour. %%% Ndi bbugwe, n'amabeere gange gali ng'ebigo byako: Ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng'omuntu alabye emirembe. 22SOS008.011 Solomon had a vineyard at Baalhamon; he let out the vineyard unto keepers; every one for the fruit thereof was to bring a thousand pieces of silver. %%% Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni; Yasigira olusuku abalimi; Olw'ebibala byamu buli muntu yasalirwa ebitundu ebya ffeeza lukumi. 22SOS008.012 My vineyard, which is mine, is before me: thou, O Solomon, must have a thousand, and those that keep the fruit thereof two hundred. %%% Olusuku lwange olw'emizabbibu, olwange, luli mu maaso gange; Ggwe, Sulemaani, onoobanga n'olukumi olwo, N'abo abakuuma ebibala byamu bikumi bibiri. 22SOS008.013 Thou that dwellest in the gardens, the companions hearken to thy voice: cause me to hear it. %%% Ggwe abeera mu nnimiro, Banno bawuliriza eddoboozi lyo: Limpulize. 22SOS008.014 Make haste, my beloved, and be thou like to a roe or to a young hart upon the mountains of spices. %%% Yanguwa, muganzi wange, Obeere ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi ez'eby'akaloosa. 23ISA001.001 The vision of Isaiah the son of Amoz, which he saw concerning Judah and Jerusalem in the days of Uzziah, Jotham, Ahaz, and Hezekiah, kings of Judah. %%% Okwolesebwa kwa Isaaya omwana wa Amozi, kwe yalabanga ku Yuda ne Yerusaalemi, mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi; ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda. 23ISA001.002 Hear, O heavens, and give ear, O earth: for the LORD hath spoken, I have nourished and brought up children, and they have rebelled against me. %%% Wulira ggwe Eggulu era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nayonsa ne ndera abaana, ne banjeemera, 23ISA001.003 The ox knoweth his owner, and the ass his master's crib: but Israel doth not know, my people doth not consider. %%% Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo: naye Isiraeri tamanyi, abantu bange tebalowooza. 23ISA001.004 Ah sinful nation, a people laden with iniquity, a seed of evildoers, children that are corrupters: they have forsaken the LORD, they have provoked the Holy One of Israel unto anger, they are gone away backward. %%% Woowe eggwanga eririna ebibi, abantu abazitoowereddwa n'obutali butuukirivu, ezzadde ery'abakola obubi, abaana aboonoona: balese Mukama, banyoomye Omutukuvu wa Isiraeri, basenguse bazze ennyuma. 23ISA001.005 Why should ye be stricken any more? ye will revolt more and more: the whole head is sick, and the whole heart faint. %%% Ekibaagaza ki okukubibwa nate, n'okweyongera ne mweyongera okujeema? omutwe gwonna gulwadde, n'omutima gwonna guzirise. 23ISA001.006 From the sole of the foot even unto the head there is no soundness in it; but wounds, and bruises, and putrifying sores: they have not been closed, neither bound up, neither mollified with ointment. %%% Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe temuliimu bulamu; wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa amavundu: tebibunizibwanga so tebisibibwanga so tebiteekebwangamu mafuta. 23ISA001.007 Your country is desolate, your cities are burned with fire: your land, strangers devour it in your presence, and it is desolate, as overthrown by strangers. %%% Ensi yammwe ezise; ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; ensi yammwe, ab'amawanga bagiriira mu maaso gammwe, era ezise, kubanga ab'amawanga bagisudde. 23ISA001.008 And the daughter of Zion is left as a cottage in a vineyard, as a lodge in a garden of cucumbers, as a besieged city. %%% Era omuwala wa Sayuuni asigadde ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekikuumirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingizibwa. 23ISA001.009 Except the LORD of hosts had left unto us a very small remnant, we should have been as Sodom, and we should have been like unto Gomorrah. %%% Mukama ow'eggye singa teyatulekerawo kitundu ekyafikkawo ekitono ennyo, twandibadde nga Sodomu, twandifaananye nga Ggomola. 23ISA001.010 Hear the word of the LORD, ye rulers of Sodom; give ear unto the law of our God, ye people of Gomorrah. %%% Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafuga Sodomu; mutege okutu eri amateeka ga Katonda waffe, mmwe abantu ab'e Ggomola. 23ISA001.011 To what purpose is the multitude of your sacrifices unto me? saith the LORD: I am full of the burnt offerings of rams, and the fat of fed beasts; and I delight not in the blood of bullocks, or of lambs, or of he goats. %%% Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira, bw'ayogera Mukama: nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, newakubadde ogw'abaana b'endiga, newakubadde ogw'embuzi emmandwa. 23ISA001.012 When ye come to appear before me, who hath required this at your hand, to tread my courts? %%% Bwe mujja okulabika mu maaso gange, ani eyabasalira kino, okulinnyirira empya zange? 23ISA001.013 Bring no more vain oblations; incense is an abomination unto me; the new moons and sabbaths, the calling of assemblies, I cannot away with; it is iniquity, even the solemn meeting. %%% Temuleetanga nate bitone ebitaliimu; obubaane bwa muzizo gye ndi; emyezi egibonese ne ssabbiiti, okuyita amakuŋŋaaniro, sisobola butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini. 23ISA001.014 Your new moons and your appointed feasts my soul hateth: they are a trouble unto me; I am weary to bear them. %%% Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa obulamu bwange bubikyawa: kwe kutegana gye ndi; nkooye okubigumiikirizanga. 23ISA001.015 And when ye spread forth your hands, I will hide mine eyes from you: yea, when ye make many prayers, I will not hear: your hands are full of blood. %%% Era bwe munaayanjalanga engalo zammwe, naabakwekanga amaaso gange: weewaawo, bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi. 23ISA001.016 Wash you, make you clean; put away the evil of your doings from before mine eyes; cease to do evil; %%% Munaabe, mwerongoose; muggyengawo obubi bw'ebikolwa byammwe bive mu maaso gange; mulekenga okukola obubi: 23ISA001.017 Learn to do well; seek judgment, relieve the oppressed, judge the fatherless, plead for the widow. %%% muyige okukolanga obulungi; mugobererenga eby'ensonga; mudduukirirenga ajoogebwa, musalenga omusango gw'atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu. 23ISA001.018 Come now, and let us reason together, saith the LORD: though your sins be as scarlet, they shall be as white as snow; though they be red like crimson, they shall be as wool. %%% Mujje nno, tuteese bw'ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu, binaaba byeru ng'omuzira; ne bwe bitwakaala ng'ebendera, binaaba ng'ebyoya by’endiga. 23ISA001.019 If ye be willing and obedient, ye shall eat the good of the land: %%% Bwe munaagondanga nemuwulira; munaalyanga ebirungi eby’ensi: 23ISA001.020 But if ye refuse and rebel, ye shall be devoured with the sword: for the mouth of the LORD hath spoken it. %%% naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. 23ISA001.021 How is the faithful city become an harlot! it was full of judgment; righteousness lodged in it; but now murderers. %%% Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga emisango egy'ensonga! obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano bassi. 23ISA001.022 Thy silver is become dross, thy wine mixed with water: %%% Effeeza yo efuuse masengere, omwenge gwo gutabudwamu amazzi. 23ISA001.023 Thy princes are rebellious, and companions of thieves: every one loveth gifts, and followeth after rewards: they judge not the fatherless, neither doth the cause of the widow come unto them. %%% Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi; buli muntu yeegomba enguzi, era agoberera empeera: tebasala musango gw'atalina kitaawe, so n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gye bali. 23ISA001.024 Therefore saith the LORD, the LORD of hosts, the mighty One of Israel, Ah, I will ease me of mine adversaries, and avenge me of mine enemies: %%% Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Owaamaanyi owa Isiraeri, nti A, ndyeggyako abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa: 23ISA001.025 And I will turn my hand upon thee, and purely purge away thy dross, and take away all thy tin: %%% era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, ne nziyawo essasi lyo lyonna: 23ISA001.026 And I will restore thy judges as at the first, and thy counsellors as at the beginning: afterward thou shalt be called, The city of righteousness, the faithful city. %%% era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka: oluvannyuma oliyitibwa nti Ekibuga eky'obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa. 23ISA001.027 Zion shall be redeemed with judgment, and her converts with righteousness. %%% Sayuuni alinunulibwa n'omusango n'abakyufu be n'obutuukirivu. 23ISA001.028 And the destruction of the transgressors and of the sinners shall be together, and they that forsake the LORD shall be consumed. %%% Naye okuzikirira kw'aboonoonyi n'abalina ebibi kulibeera wamu n'abo abaleka Mukama balimalibwawo. 23ISA001.029 For they shall be ashamed of the oaks which ye have desired, and ye shall be confounded for the gardens that ye have chosen. %%% Kubanga ensonyi ziribakwata olw'emivule gye mwegomba, era muliswazibwa olw'ensuku ze mweroboza. 23ISA001.030 For ye shall be as an oak whose leaf fadeth, and as a garden that hath no water. %%% Kubanga muliba ng'omuvule oguwotoka amalagala, era ng'olusuku omutali mazzi. 23ISA001.031 And the strong shall be as tow, and the maker of it as a spark, and they shall both burn together, and none shall quench them. %%% Era ow'amaanyi aliba ng'enfuuzi, n'omulimu gwe ng'olusasi olw'omuliro; era byombi biriggiira wamu, so tewaliba abizikiza. 23ISA002.001 The word that Isaiah the son of Amoz saw concerning Judah and Jerusalem. %%% Ekigambo Isaaya omwana wa Amozi kye yalaba ku Yuda ni Yerusaalemi. 23ISA002.002 And it shall come to pass in the last days, that the mountain of the LORD's house shall be established in the top of the mountains, and shall be exalted above the hills; and all nations shall flow unto it. %%% Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y'ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo. 23ISA002.003 And many people shall go and say, Come ye, and let us go up to the mountain of the LORD, to the house of the God of Jacob; and he will teach us of his ways, and we will walk in his paths: for out of Zion shall go forth the law, and the word of the LORD from Jerusalem. %%% Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 23ISA002.004 And he shall judge among the nations, and shall rebuke many people: and they shall beat their swords into plowshares, and their spears into pruninghooks: nation shall not lift up sword against nation, neither shall they learn war any more. %%% Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate. 23ISA002.005 O house of Jacob, come ye, and let us walk in the light of the LORD. %%% Mmwe ennyumba ya Yakobo mujje tutambulire mu musana gwa Mukama. 23ISA002.006 Therefore thou hast forsaken thy people the house of Jacob, because they be replenished from the east, and are soothsayers like the Philistines, and they please themselves in the children of strangers. %%% Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakubagana mu ngalo n'abaana b'ab'amawanga. 23ISA002.007 Their land also is full of silver and gold, neither is there any end of their treasures; their land is also full of horses, neither is there any end of their chariots: %%% Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu, so n'obugagga bwabwe tebuliiko gye bukoma; era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n'amagaali gaabwe tegaliiko gye gakoma. 23ISA002.008 Their land also is full of idols; they worship the work of their own hands, that which their own fingers have made: %%% Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw'emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe zaakola. 23ISA002.009 And the mean man boweth down, and the great man humbleth himself: therefore forgive them not. %%% Omukopi n'avuunama, n'omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa. 23ISA002.010 Enter into the rock, and hide thee in the dust, for fear of the LORD, and for the glory of his majesty. %%% Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe; 23ISA002.011 The lofty looks of man shall be humbled, and the haughtiness of men shall be bowed down, and the LORD alone shall be exalted in that day. %%% Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 23ISA002.012 For the day of the LORD of hosts shall be upon every one that is proud and lofty, and upon every one that is lifted up; and he shall be brought low: %%% Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa: 23ISA002.013 And upon all the cedars of Lebanon, that are high and lifted up, and upon all the oaks of Bashan, %%% n'eri enfugo zonna eza Lebanooni, empanvu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egya Basani; 23ISA002.014 And upon all the high mountains, and upon all the hills that are lifted up, %%% n'eri ensozi zonna empanvu, n'eri obusozi bwonna obugulumizibwa; 23ISA002.015 And upon every high tower, and upon every fenced wall, %%% n'eri buli kigo ekiwanvu, n'eri buli bbugwe aliko ekkomera; 23ISA002.016 And upon all the ships of Tarshish, and upon all pleasant pictures. %%% n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi, n'eri ebifaananyi byonna eby'okwesiima. 23ISA002.017 And the loftiness of man shall be bowed down, and the haughtiness of men shall be made low: and the LORD alone shall be exalted in that day. %%% Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 23ISA002.018 And the idols he shall utterly abolish. %%% N'ebifaananyi biriggweerawo ddala. 23ISA002.019 And they shall go into the holes of the rocks, and into the caves of the earth, for fear of the LORD, and for the glory of his majesty, when he ariseth to shake terribly the earth. %%% Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi. 23ISA002.020 In that day a man shall cast his idols of silver, and his idols of gold, which they made each one for himself to worship, to the moles and to the bats; %%% Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby'effeeza n'ebifaananyi bye eby'ezaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n'eri ebinyira; 23ISA002.021 To go into the clefts of the rocks, and into the tops of the ragged rocks, for fear of the LORD, and for the glory of his majesty, when he ariseth to shake terribly the earth. %%% bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi. 23ISA002.022 Cease ye from man, whose breath is in his nostrils: for wherein is he to be accounted of ? %%% Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe: kubanga ekinaaba kibalowoozesa kiki? 23ISA003.001 For, behold, the Lord, the LORD of hosts, doth take away from Jerusalem and from Judah the stay and the staff, the whole stay of bread, and the whole stay of water. %%% Kubanga; laba, Mukama, Mukama ow’eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n'ekyo kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna eky'emmere, n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi; 23ISA003.002 The mighty man, and the man of war, the judge, and the prophet, and the prudent, and the ancient, %%% omusajja ow'amaanyi, n'omusajja omuzira; omulamuzi, ne nnabbi, n'omulaguzi, n'omukadde; 23ISA003.003 The captain of fifty, and the honourable man, and the counsellor, and the cunning artificer, and the eloquent orator. %%% omukulu ow'amakumi ataano n'ow'ekitiibwa n'ateesa ebigambo ne ffundi ow'amagezi n'omufumu ow'obukabakaba. 23ISA003.004 And I will give children to be their princes, and babes shall rule over them. %%% Era ndireeta abaana okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga. 23ISA003.005 And the people shall be oppressed, every one by another, and every one by his neighbour: the child shall behave himself proudly against the ancient, and the base against the honourable. %%% Era abantu balijoogebwa, buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we: omuto aligirira ekyejo omukadde, n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa. 23ISA003.006 When a man shall take hold of his brother of the house of his father, saying, Thou hast clothing, be thou our ruler, and let this ruin be under thy hand: %%% Omuntu bw'alikwata muganda we mil nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, a'okubula kuno kubeere wansi w'omukono gwo: 23ISA003.007 In that day shall he swear, saying, I will not be an healer; for in my house is neither bread nor clothing: make me not a ruler of the people. %%% ku lunaku olwo aliyimusa eddoboozi lye, ng'ayogera nti Sijja kuba muwonya; kubanga mu nnyumba yange temuli mmere newakubadde eby'okwambala: temujja kunfuula mufuzi wa bantu. 23ISA003.008 For Jerusalem is ruined, and Judah is fallen: because their tongue and their doings are against the LORD, to provoke the eyes of his glory. %%% Kubanga Yerusaalemi kizikiridde, ne Yuda agudde: kubanga olulimi lwabwe n'ebikolwa byabwe biwakanya Mukama, okusunguwaza amaaso ag'ekitiibwa kye. 23ISA003.009 The shew of their countenance doth witness against them; and they declare their sin as Sodom, they hide it not. Woe unto their soul! for they have rewarded evil unto themselves. %%% Ekifaananyi ky'obwenyi bwabwe kitegeeza nga gubasinze; era babuulira ekibi kyabwe nga Sodomu, tebakikisa. Zisanze obulamu bwabwe! kubanga beesasulidde bokka obubi. 23ISA003.010 Say ye to the righteous, that it shall be well with him: for they shall eat the fruit of their doings. %%% Mwogere ku mutuukirivu nti anaabanga bulungi: kubanga banaalyanga ebibala by'ebikolwa byabwe. 23ISA003.011 Woe unto the wicked! it shall be ill with him: for the reward of his hands shall be given him. %%% Zisanze omubi anaabanga bubi: kubanga anaaweebwanga empeera y'engalo ze. 23ISA003.012 As for my people, children are their oppressors, and women rule over them. O my people, they which lead thee cause thee to err, and destroy the way of thy paths. %%% Abantu bange abaana abato be babajooga, era abakazi be babafuga. Woowe abantu bange, ababakulembera babakyamya, era bazikiriza ekkubo lyammwe eritambulirwamu. 23ISA003.013 The LORD standeth up to plead, and standeth to judge the people. %%% Mukama ayimirira okuwoza, era ayimirira okusala omusango gw'amawanga. 23ISA003.014 The LORD will enter into judgment with the ancients of his people, and the princes thereof: for ye have eaten up the vineyard; the spoil of the poor is in your houses. %%% Mukama alisala omusango gw'abakadde b'abantu be n'abalangira baabwe: Mmwe mwaliira ddala olusuku lw'emizabbibu; omunyago gw'omwavu guli mu nnyumba zammwe: 23ISA003.015 What mean ye that ye beat my people to pieces, and grind the faces of the poor? saith the Lord GOD of hosts. %%% mubadde ki okubetentanga abantu bange, n'okusanga amaaso g'abaavu? bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. 23ISA003.016 Moreover the LORD saith, Because the daughters of Zion are haughty, and walk with stretched forth necks and wanton eyes, walking and mincing as they go, and making a tinkling with their feet: %%% Era nate Mukama yayogera nti Kubanga abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo era nga balina amaaso ag'obukaba, nga batambula era nga bakumba bwe bagenda, era nga bavuza ebigere byabwe: 23ISA003.017 Therefore the LORD will smite with a scab the crown of the head of the daughters of Zion, and the LORD will discover their secret parts. %%% Mukama kyaliva alwaza ebikakampa obwezinge bw'omutwe gw'abawala ba Sayuuni, Mukama n'abikkula ku nsonyi zaabwe. 23ISA003.018 In that day the Lord will take away the bravery of their tinkling ornaments about their feet, and their cauls, and their round tires like the moon, %%% Ku lunaku olwo Mukama aliggyako obuyonjo bw'amasamba gaabwe, n'enkundulu zaabwe, n'ebifaanana ng'emyezi; 23ISA003.019 The chains, and the bracelets, and the mufflers, %%% n'emijugo, n'emisagga, n'engoye ez'oku maaso; 23ISA003.020 The bonnets, and the ornaments of the legs, and the headbands, and the tablets, and the earrings, %%% ebiremba, n'obudangadi, n'enneebagyo, n'obucupa obw'akaloosa, n'ensiriba; 23ISA003.021 The rings, and nose jewels, %%% empeta n'empeta ez'omu nnyindo; 23ISA003.022 The changeable suits of apparel, and the mantles, and the wimples, and the crisping pins, %%% engoye ez'amabala, n'eminagiro, n'essuuka, n'ensawo; 23ISA003.023 The glasses, and the fine linen, and the hoods, and the vails. %%% endabirwamu, ne bafuta, n'ebiremba, n'ezibikka ku mitwe. 23ISA003.024 And it shall come to pass, that instead of sweet smell there shall be stink; and instead of a girdle a rent; and instead of well set hair baldness; and instead of a stomacher a girding of sackcloth; and burning instead of beauty. %%% Awo olulituuka awaali eby'akaloosa walibaawo ekivundu; n'awaali olwebagyo mugwa; n'awaali enviiri ensunsule obulungi kiwalata; n’awaali ekizibawo kwesiba kibukutu: awaali obuyonjo kwokebwa. 23ISA003.025 Thy men shall fall by the sword, and thy mighty in the war. %%% Abasajja bo ekitala kiribatta, n'abazira bo balifiira mu ntalo. 23ISA003.026 And her gates shall lament and mourn; and she being desolate shall sit upon the ground. %%% N'enzigi ze zirikaaba ziriwuubaala; era ye a1iba munaku, alituula ku ttaka. 23ISA004.001 And in that day seven women shall take hold of one man, saying, We will eat our own bread, and wear our own apparel: only let us be called by thy name, to take away our reproach. %%% Era abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu ku lunaku luli, nga boogera nti Tunaalyanga emmere yaffe ffe, era tunaayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe. 23ISA004.002 In that day shall the branch of the LORD be beautiful and glorious, and the fruit of the earth shall be excellent and comely for them that are escaped of Israel. %%% Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi. 23ISA004.003 And it shall come to pass, that he that is left in Zion, and he that remaineth in Jerusalem, shall be called holy, even every one that is written among the living in Jerusalem: %%% Awo olulituuka, oyo asigadde mu Sayuuni n'oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi: 23ISA004.004 When the Lord shall have washed away the filth of the daughters of Zion, and shall have purged the blood of Jerusalem from the midst thereof by the spirit of judgment, and by the spirit of burning. %%% Mukama bw'aliba ng'anaalizza ddala empitambi y'abawala ba Sayuuni, era ng'amazeemu omusaayi gwa Yerusaalemi wakati mu kyo, olw'omwoyo ogw'omusango, era olw'omwoyo ogw'okwokya. 23ISA004.005 And the LORD will create upon every dwelling place of mount Zion, and upon her assemblies, a cloud and smoke by day, and the shining of a flaming fire by night: for upon all the glory shall be a defence. %%% Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ekire n'omukka emisana, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbibwako. 23ISA004.006 And there shall be a tabernacle for a shadow in the day time from the heat, and for a place of refuge, and for a covert from storm and from rain. %%% Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n'okuba ekiddukiro era omwekwekebwa. 23ISA005.001 Now will I sing to my wellbeloved a song of my beloved touching his vineyard. My wellbeloved hath a vineyard in a very fruitful hill: %%% Nnyimbire muganzi wange oluyimba olw'omwagalwa wange ebigambo by'olusuku lwe olw'emizabbibu. Muganzi wange yalina olusuku olw'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo: 23ISA005.002 And he fenced it, and gathered out the stones thereof, and planted it with the choicest vine, and built a tower in the midst of it, and also made a winepress therein: and he looked that it should bring forth grapes, and it brought forth wild grapes. %%% n'alusimira olusalosalo, n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu omuzabbibu omulungi ennyo nnyini, n'aluzimbamu wakati ekigo, era n'alusimamu essogolero: n'asuubira lubale zabbibu, ne lubala zabbibu ez'omu nsiko. 23ISA005.003 And now, O inhabitants of Jerusalem, and men of Judah, judge, I pray you, betwixt me and my vineyard. %%% Kale nno, mmwe abatuula mu Yerusaalemi nammwe abasajja ba Yuda, mutusalire omusango, mbeegayiridde, nze n'olusuku lwange olw'emizabbibu. 23ISA005.004 What could have been done more to my vineyard, that I have not done in it? wherefore, when I looked that it should bring forth grapes, brought it forth wild grapes? %%% Nandiyinzizza kukola ki nate olusuku lwange olw'emizabbibu kye nnalema okulukola? Bwe nnasuubira lubale zabbibu, ekyalubaza zabbibu ez'omu nsiko kiki? 23ISA005.005 And now go to; I will tell you what I will do to my vineyard: I will take away the hedge thereof, and it shall be eaten up; and break down the wall thereof, and it shall be trodden down: %%% Kale nno kaakano ka mbategeeze kye nnaakola olusuku lwange olw'emizabbibu: naggyako olukomera lwalwo, era luliriirwa ddala; naamenyera ddala ekisaakaate kyalwo, era lulirinnyrirwa ddala: 23ISA005.006 And I will lay it waste: it shall not be pruned, nor digged; but there shall come up briers and thorns: I will also command the clouds that they rain no rain upon it. %%% era naaluzisa; tebaalusalirenga so tebaalulimenga; naye mulimeramu emyeramannyo n'amaggwa: era ndiragira ebire obutalutonnyesangako nkuba. 23ISA005.007 For the vineyard of the LORD of hosts is the house of Israel, and the men of Judah his pleasant plant: and he looked for judgment, but behold oppression; for righteousness, but behold a cry. %%% Kubanga olusuku olw'emizabbibu olwa Mukama ow'eggye ye nnyumba ya Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubira okusala ensonga, naye, laba, kujooga; obutuukirivu, naye, laba, kukaaba. 23ISA005.008 Woe unto them that join house to house, that lay field to field, till there be no place, that they may be placed alone in the midst of the earth! %%% Zibasanze abo abagatta ennyumba n'ennyumba ginnaayo, abongera ennimiro ku nnimiro ginnaayo, okutuusa ebbanga lwe liggwaawo, nammwe n'okutuula ne mutuula mwekka wakati mu nsi! 23ISA005.009 In mine ears said the LORD of hosts, Of a truth many houses shall be desolate, even great and fair, without inhabitant. %%% Mu matu gange ayogera Mukama ow'eggye nti Mazima ennyumba nnyingi ziriba bifulukwa, ennene era ennungi, nga tewali azituulamu. 23ISA005.010 Yea, ten acres of vineyard shall yield one bath, and the seed of an homer shall yield an ephah. %%% Kubanga ensuku ez'emizabbibu kkumi zinaavangamu ekibbo kimu, n'ogusera ogw'ensigo gunaavangamu ekibbo kimu kyokka. 23ISA005.011 Woe unto them that rise up early in the morning, that they may follow strong drink; that continue until night, till wine inflame them! %%% Zibasanze abo abakeera enkya mu makya okugolokoka, bagoberere ekitamiiza; abalwawo ekiro okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa! 23ISA005.012 And the harp, and the viol, the tabret, and pipe, and wine, are in their feasts: but they regard not the work of the LORD, neither consider the operation of his hands. %%% Era ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge biri mu mbaga zaabwe: naye tebalowooza mulimu gwa Mukama, so tebannassa ku mwoyo okukola kw'engalo ze. 23ISA005.013 Therefore my people are gone into captivity, because they have no knowledge: and their honourable men are famished, and their multitude dried up with thirst. %%% Abantu bange kyebavudde bagenda mu bunyage, olw'okubulwa okumanya: n'abasajja baabwe ab'ekitiibwa balumiddwa enjala, n'ekibiina kyabwe ennyonta ebasse. 23ISA005.014 Therefore hell hath enlarged herself, and opened her mouth without measure: and their glory, and their multitude, and their pomp, and he that rejoiceth, shall descend into it. %%% Amagombe kyegavudde gagaziya okwegomba kwago, era gaasamizza akamwa kaago ekitayasamizika: n'ekitiibwa kyabwe n'obungi bwabwe n'oluyoogaano lwabwe n'oyo asanyuka mu bo bikka omwo. 23ISA005.015 And the mean man shall be brought down, and the mighty man shall be humbled, and the eyes of the lofty shall be humbled: %%% Era omukopi akutamizibwa, n'omukulu atoowazibwa, n'amaaso g'ab'amalala gatoowazibwa: 23ISA005.016 But the LORD of hosts shall be exalted in judgment, and God that is holy shall be sanctified in righteousness. %%% naye Mukama ow'eggye agulumizibwa olw'omusango, era Katonda Omutukuvu atukuzibwa olw'obutuukirivu. 23ISA005.017 Then shall the lambs feed after their manner, and the waste places of the fat ones shall strangers eat. %%% Abaana b'endiga ne ziryoka zirya nga mu ddundiro lyazo, era ebifo ebyazika eby'abagevvu abatambuze balibirya. 23ISA005.018 Woe unto them that draw iniquity with cords of vanity, and sin as it were with a cart rope: %%% Zibasanze abo abawalula obutali butuukirivu n'akagwa ak'obulimba, abawalula ekibi nga n'omugwa ogw'eggaali: 23ISA005.019 That say, Let him make speed, and hasten his work, that we may see it: and let the counsel of the Holy One of Israel draw nigh and come, that we may know it! %%% aboogera nti Ayanguyeeko, asambyeko omulimu gwe tugulabe: n'okuteesa kw'Omutukuvu wa Isiraeri kusembere kutuuke tukumanye! 23ISA005.020 Woe unto them that call evil good, and good evil; that put darkness for light, and light for darkness; that put bitter for sweet, and sweet for bitter! %%% Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka okukaawa mu kifo ky'okuwoomerera, n'okuwoomerera mu kifo ky'okukaawa! 23ISA005.021 Woe unto them that are wise in their own eyes, and prudent in their own sight! %%% Zibasanze abo abalina amagezi mu maaso gaabwe bo, era abakabakaba mu kulaba kwabwe bo! 23ISA005.022 Woe unto them that are mighty to drink wine, and men of strength to mingle strong drink: %%% Zibasanze abo abalina amaanyi okunywa omwenge, era abazira okutabula ekitamiiza: 23ISA005.023 Which justify the wicked for reward, and take away the righteousness of the righteous from him! %%% abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi; era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe! 23ISA005.024 Therefore as the fire devoureth the stubble, and the flame consumeth the chaff, so their root shall be as rottenness, and their blossom shall go up as dust: because they have cast away the law of the LORD of hosts, and despised the word of the Holy One of Israel. %%% Kale ng'olulimi lw'omuliro bwe lyokya ensambu, era ng'essubi ekkalu bwe likka mu muliro, bwe kityo ekikolo kyabwe kiriba ng'ekivundu, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri. 23ISA005.025 Therefore is the anger of the LORD kindled against his people, and he hath stretched forth his hand against them, and hath smitten them: and the hills did tremble, and their carcases were torn in the midst of the streets. For all this his anger is not turned away, but his hand is stretched out still. %%% Obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuuka ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubalumba, era abasse, ensozi ne zikankana; n'emirambo gyabwe ne giba ng'ebisasiro wakati mu nguudo. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, naye omukono gwe gukyagoloddwa. 23ISA005.026 And he will lift up an ensign to the nations from far, and will hiss unto them from the end of the earth: and, behold, they shall come with speed swiftly: %%% Era aliyimusiza amawanga ebendera ng'ayima wala, alibakoowoola ng'ayima ku nkomerero y'ensi: era, laba, balyanguwa mangu okujja: 23ISA005.027 None shall be weary nor stumble among them; none shall slumber nor sleep; neither shall the girdle of their loins be loosed, nor the latchet of their shoes be broken: %%% tewaliba mu bo alikoowa newakubadde alyesittala; tewaliba alibongoota newakubadde alyebaka; so n'olukoba lwe beesiba terulisumulukuka, so n'olukoba lw'engatto zaabwe terulikutuka: 23ISA005.028 Whose arrows are sharp, and all their bows bent, their horses' hoofs shall be counted like flint, and their wheels like a whirlwind: %%% obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe biribalibwa ng'amayinja ag'embaalebaale, ne bannamuziga baabwe nga kibuyaga; 23ISA005.029 Their roaring shall be like a lion, they shall roar like young lions: yea, they shall roar, and lay hold of the prey, and shall carry it away safe, and none shall deliver it. %%% okulira kwabwe kuliba ng'empologoma, balirira ng'empologoma ento: weewaawo, balirira, balikwata omuyiggo gwabwe, ne bagitwalira ddala mirembe, so tewalibaawo aliwonya. 23ISA005.030 And in that day they shall roar against them like the roaring of the sea: and if one look unto the land, behold darkness and sorrow, and the light is darkened in the heavens thereof. %%% Era baliwuuma ku bo ku lunaku luli ng'ennyanja bw'ewuuma: era omuntu bw'atunuulira olukalu, laba ekizikiza n'ennaku, n'omusana guzikizibwa mu bire byalwo. 23ISA006.001 In the year that king Uzziah died I saw also the LORD sitting upon a throne, high and lifted up, and his train filled the temple. %%% Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu eyagulumizibwa, n'ekirenge kye nga kijjula yeekaalu. 23ISA006.002 Above it stood the seraphims: each one had six wings; with twain he covered his face, and with twain he covered his feet, and with twain he did fly. %%% Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri yabibikka mu maaso ge, n'ebibiri yabibikka ku bigere bye, n'ebibiri yabibuusa. 23ISA006.003 And one cried unto another, and said, Holy, holy, holy, is the LORD of hosts: the whole earth is full of his glory. %%% Omu n'ayogerera waggulu eri munne ng'agamba nti Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama w'eggye: ensi yonna ejjudde ekiiibwa kye. 23ISA006.004 And the posts of the door moved at the voice of him that cried, and the house was filled with smoke. %%% N'emisingi gy'emiryango ne ginyeenyezebwa olw'edoboozi ly'oyo eyayogerera waggulu, ennyumba n'ejjula omukka. 23ISA006.005 Then said I, Woe is me! for I am undone; because I am a man of unclean lips, and I dwell in the midst of a people of unclean lips: for mine eyes have seen the King, the LORD of hosts. %%% Ne ndyoka njogera nti Zinsanze! kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab'emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye. 23ISA006.006 Then flew one of the seraphims unto me, having a live coal in his hand, which he had taken with the tongs from off the altar: %%% Omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo: 23ISA006.007 And he laid it upon my mouth, and said, Lo, this hath touched thy lips; and thine iniquity is taken away, and thy sin purged. %%% n'alikomya ku kamwa kange, n'ayogera nti Laba, lino likomye ku mimwa gyo; era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kirongoosebbwa. 23ISA006.008 Also I heard the voice of the Lord, saying, Whom shall I send, and who will go for us? Then said I, Here am I; send me. %%% Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, nga lyogera nti Naatuma ani, era anaatugendera ani? Ne ndyoka njogera nti Nze nzuuno: ntuma nze. 23ISA006.009 And he said, Go, and tell this people, Hear ye indeed, but understand not; and see ye indeed, but perceive not. %%% N'ayogera nti Genda obuulire abantu bano nti Okuwulira muwulire naye temutegeera; n'ozulaba mulabe, naye temwetegereza. 23ISA006.010 Make the heart of this people fat, and make their ears heavy, and shut their eyes; lest they see with their eyes, and hear with their ears, and understand with their heart, and convert, and be healed. %%% Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, n'okukyuka, okuwonyezebwa. 23ISA006.011 Then said I, Lord, how long? And he answered, Until the cities be wasted without inhabitant, and the houses without man, and the land be utterly desolate, %%% Ne ndyoka njogera nti Mukama wange, birituusa wa okubaawo? N'addamu nti Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abituulamu, ne mu nnyumba nga temuli muntu ensi n'ezirikira ddala, 23ISA006.012 And the LORD have removed men far away, and there be a great forsaking in the midst of the land. %%% era Mukama ng’ajjuludde abantu ng'abatutte wala, n’ebifulukwa nga bingi wakati mu nsi. 23ISA006.013 But yet in it shall be a tenth, and it shall return, and shall be eaten: as a teil tree, and as an oak, whose substance is in them, when they cast their leaves: so the holy seed shall be the substance thereof. %%% Era ekitundu eky'ekkumi bwe kiriba nga kikyasigadde omwo, kiririirwa ddala nate: ng'omumyuliru era ng'omuvule ekikolo kyagyo nga kisigadde, bwe gitemebwawo; bwe kityo ensigo entukuvu kye kikolo kyayo. 23ISA007.001 And it came to pass in the days of Ahaz the son of Jotham, the son of Uzziah, king of Judah, that Rezin the king of Syria, and Pekah the son of Remaliah, king of Israel, went up toward Jerusalem to war against it, but could not prevail against it. %%% Awo olwatuuka ku mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w'e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isiraeri, ne bayambuka e Yerusaalemi okukirwanyisa; naye ne bakiremwa. 23ISA007.002 And it was told the house of David, saying, Syria is confederate with Ephraim. And his heart was moved, and the heart of his people, as the trees of the wood are moved with the wind. %%% Ne babuulira ennyumba ya Dawudi nga boogera nti Obusuuli butabaganye ne Efulayimu. Omutima gwe ne gunyeenyezebwa, n'omutima gw'abantu be, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa n'empewo. 23ISA007.003 Then said the LORD unto Isaiah, Go forth now to meet Ahaz, thou, and Shearjashub thy son, at the end of the conduit of the upper pool in the highway of the fuller's field; %%% Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne Seyalusayubu omwana wo, olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu we lukoma, mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye; 23ISA007.004 And say unto him, Take heed, and be quiet; fear not, neither be fainthearted for the two tails of these smoking firebrands, for the fierce anger of Rezin with Syria, and of the son of Remaliah. %%% omugambe nti Weekuume obeerewo bubeezi; totya, so n'omutima gwo teguzirikanga olw'emimuli gino gyombi eginyooka egiggweeredde, olw'obusungu obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obw'omwana wa Lemaliya. 23ISA007.005 Because Syria, Ephraim, and the son of Remaliah, have taken evil counsel against thee, saying, %%% Kubanga Obusuuli buteesezza obubi ku ggwe, ne Efulayimu, n'omwana wa Lemaliya, nga boogera nti 23ISA007.006 Let us go up against Judah, and vex it, and let us make a breach therein for us, and set a king in the midst of it, even the son of Tabeal: %%% Twambuke tulumbe Yerusaalemi, tukiteganye, twewagulire omwo ekituli, tusseewo kabaka wakati mu kyo, omwana wa Tabeeri: 23ISA007.007 Thus saith the Lord GOD, It shall not stand, neither shall it come to pass. %%% bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Tekirinywera so tekirituukirira. 23ISA007.008 For the head of Syria is Damascus, and the head of Damascus is Rezin; and within threescore and five years shall Ephraim be broken, that it be not a people. %%% Kubanga omutwe gw'Obusuuli ye Ddamasiko n'omutwe gw'e Ddamasiko ye Lezini: era emyaka enkaaga n'etaano nga teginnaggwaawo Efulayimu alimenyekamenyeka obutaba ggwanga: 23ISA007.009 And the head of Ephraim is Samaria, and the head of Samaria is Remaliah's son. If ye will not believe, surely ye shall not be established. %%% n'omutwe gwa Efulayimu ye Samaliya, n'omutwe gw'e Samaliya ye mwana wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa. 23ISA007.010 Moreover the LORD spake again unto Ahaz, saying, %%% Awo Mukama n'agamba nate Akazi nti 23ISA007.011 Ask thee a sign of the LORD thy God; ask it either in the depth, or in the height above. %%% Weesabire Mukama Katonda wo akabonero: kasabe oba mu buziba oba mu bbanga waggulu. 23ISA007.012 But Ahaz said, I will not ask, neither will I tempt the LORD. %%% Naye Akazi n'ayogera nti Siisabe so siikeme Mukama. 23ISA007.013 And he said, Hear ye now, O house of David; Is it a small thing for you to weary men, but will ye weary my God also? %%% N'ayogera nti Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange era? 23ISA007.014 Therefore the Lord himself shall give you a sign; Behold, a virgin shall conceive, and bear a son, and shall call his name Immanuel. %%% Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi era alituumwa erinnya lye Imanueri. 23ISA007.015 Butter and honey shall he eat, that he may know to refuse the evil, and choose the good. %%% Omuzigo n'omubisi gw'enjuki alibirya, bw'amanya okugaana ebibi, n'okweroboza ebirungi. 23ISA007.016 For before the child shall know to refuse the evil, and choose the good, the land that thou abhorrest shall be forsaken of both her kings. %%% Kubanga omwana nga tannamanya kugaana bibi n'okweroboza ebirungi, ensi gy'okyawaamu bakabaka baayo bombi erirekebwa. 23ISA007.017 The LORD shall bring upon thee, and upon thy people, and upon thy father's house, days that have not come, from the day that Ephraim departed from Judah; even the king of Assyria. %%% Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitajjanga, okuva ku lunaku Efulayimu lwe yaviiramu mu Yuda; kabaka w'e Bwasuli. 23ISA007.018 And it shall come to pass in that day, that the LORD shall hiss for the fly that is in the uttermost part of the rivers of Egypt, and for the bee that is in the land of Assyria. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikoowoola ensowera eri mu bifo eby'ewala eby'emigga egy'e Misiri, n'enjuki eri mu nsi y'e Bwasuli. 23ISA007.019 And they shall come, and shall rest all of them in the desolate valleys, and in the holes of the rocks, and upon all thorns, and upon all bushes. %%% Era birijja, era biriwummulira byonna mu biwonvu ebyazika, ne mu bunnya obw'omu mayinja, ne ku maggwa gonna, ne ku malundiro gonna. 23ISA007.020 In the same day shall the Lord shave with a razor that is hired, namely, by them beyond the river, by the king of Assyria, the head, and the hair of the feet: and it shall also consume the beard. %%% Ku lunaku luli Mukama alimwesa akamwano akagule akali mu bifo eby'emitala w'omugga, ye Kabaka w'e Bwasuli, omutwe n'obwoya obw'oku bigere: era kalimalawo n'ekirevu. 23ISA007.021 And it shall come to pass in that day, that a man shall nourish a young cow, and two sheep; %%% Awo olulituuka ku lunaku luli omusajja aliriisa ente eyonsa ento n'endiga bbiri; 23ISA007.022 And it shall come to pass, for the abundance of milk that they shall give he shall eat butter: for butter and honey shall every one eat that is left in the land. %%% Awo olulituuka olw'amata amangi ge zirigabiza anaalyanga omuzigo: kubanga buli muntu an'alyanga omuzigo n'omubisi gw'enjuki aliba asigadde wakati mu nsi. 23ISA007.023 And it shall come to pass in that day, that every place shall be, where there were a thousand vines at a thousand silverlings, it shall even be for briers and thorns. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n'amaggwa. 23ISA007.024 With arrows and with bows shall men come thither; because all the land shall become briers and thorns. %%% Balijjayo nga balina obusaale n'omutego; kubanga ensi yonna eriba myeramannyo, n'amaggwa. 23ISA007.025 And on all hills that shall be digged with the mattock, there shall not come thither the fear of briers and thorns: but it shall be for the sending forth of oxen, and for the treading of lesser cattle. %%% N'ensozi zonna ze baalimanga n'enkumbi, tolituukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga. 23ISA008.001 Moreover the LORD said unto me, Take thee a great roll, and write in it with a man's pen concerning Mahershalalhashbaz. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire ekipande ekinene, okiwandiikeko n'ekkalaamu ey'omuntu nti Kya Makeru-salalukasu-bazi; 23ISA008.002 And I took unto me faithful witnesses to record, Uriah the priest, and Zechariah the son of Jeberechiah. %%% nange ndyetwalira abajulirwa abeesigwa okuwandiika, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya. 23ISA008.003 And I went unto the prophetess; and she conceived, and bare a son. Then said the LORD to me, Call his name Mahershalalhashbaz. %%% Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasu-bazi. 23ISA008.004 For before the child shall have knowledge to cry, My father, and my mother, the riches of Damascus and the spoil of Samaria shall be taken away before the king of Assyria. %%% Kubanga omwana nga tannamanya kukaaba nti Kitange, era nti Mmange, obugagga obw'e Ddamasiko n'omunyago ogw'e Samaliya birinyagibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli. 23ISA008.005 The LORD spake also unto me again, saying, %%% Mukama n'ayogera nange nate omulundi omulala nti 23ISA008.006 Forasmuch as this people refuseth the waters of Shiloah that go softly, and rejoice in Rezin and Remaliah's son; %%% Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Sirowa agatambula empola, ne basanyukira Lezini n'omwana wa Lemaliya; 23ISA008.007 Now therefore, behold, the Lord bringeth up upon them the waters of the river, strong and many, even the king of Assyria, and all his glory: and he shall come up over all his channels, and go over all his banks: %%% kale nno, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag'Omugga, ag'amaanyi era amangi, kabaka w’e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era aliyiika ku ttale lye lyona: 23ISA008.008 And he shall pass through Judah; he shall overflow and go over, he shall reach even to the neck; and the stretching out of his wings shall fill the breadth of thy land, O Immanuel. %%% era alyeyongera n'akulukuta okutuuka mu Yuda; alyanjaala aliyitamu; alikoma ne mu bulago; n'okugololwa kw'ebiwaawaatiro bye kulijjuza ensi yo, ggwe Imanueri; nga bwe yenkana obugazi. 23ISA008.009 Associate yourselves, O ye people, and ye shall be broken in pieces; and give ear, all ye of far countries: gird yourselves, and ye shall be broken in pieces; gird yourselves, and ye shall be broken in pieces. %%% Muyoogaane, mmwe amawanga, mulimenyekamenyeka; era mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala: mwesibe, mulimenyekamenyeka; mwesibe, mulimenyekamenyeka. 23ISA008.010 Take counsel together, and it shall come to nought; speak the word, and it shall not stand: for God is with us. %%% Muteese ebigambo wamu, birizikirizibwa; mwogere ekigambo, tekiriyimirira: kubanga Katonda ali wamu naffe. 23ISA008.011 For the LORD spake thus to me with a strong hand, and instructed me that I should not walk in the way of this people, saying, %%% Kubanga Mukama yayogera nange bw'atyo n'omukono ogw'amaanyi, n'anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'ayogera nti 23ISA008.012 Say ye not, A confederacy, to all them to whom this people shall say, A confederacy; neither fear ye their fear, nor be afraid. %%% Temwogera nti Okwekoba, mu byonna eggwanga lino bye liryogerako nti Okwekoba; so temutya kutya kwabwe, so temutekemuka. 23ISA008.013 Sanctify the LORD of hosts himself; and let him be your fear, and let him be your dread. %%% Mukama ow'eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ekitiibwa kyammwe. 23ISA008.014 And he shall be for a sanctuary; but for a stone of stumbling and for a rock of offence to both the houses of Israel, for a gin and for a snare to the inhabitants of Jerusalem. %%% Era aliba ng'awatukuvu; naye aliba ng'ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza Isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi. 23ISA008.015 And many among them shall stumble, and fall, and be broken, and be snared, and be taken. %%% Era bangi abaliryesittalako, ne bagwa, ne bamenyeka, ne bategebwa, ne bakwasibwa. 23ISA008.016 Bind up the testimony, seal the law among my disciples. %%% Sibira ddala okutegeeza, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange. 23ISA008.017 And I will wait upon the LORD, that hideth his face from the house of Jacob, and I will look for him. %%% Era ndirindirira Mukama, akweka amaaso ge ennyumba ya Yakobo, ne mmunoonya. 23ISA008.018 Behold, I and the children whom the LORD hath given me are for signs and for wonders in Israel from the LORD of hosts, which dwelleth in mount Zion. %%% Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni. 23ISA008.019 And when they shall say unto you, Seek unto them that have familiar spirits, and unto wizards that peep, and that mutter: should not a people seek unto their God? for the living to the dead? %%% Era bwe babagambanga nti Mubuuze abo abaliko emizimu n'abafumu, abalira ng'ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by'abalamu bandibibuuzizza bafu? 23ISA008.020 To the law and to the testimony: if they speak not according to this word, it is because there is no light in them. %%% Tudde eri amateeka n'obujulirwa! oba nga teboogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 23ISA008.021 And they shall pass through it, hardly bestead and hungry: and it shall come to pass, that when they shall be hungry, they shall fret themselves, and curse their king and their God, and look upward. %%% Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe waggulu: 23ISA008.022 And they shall look unto the earth; and behold trouble and darkness, dimness of anguish; and they shall be driven to darkness. %%% era banaatunuuliranga ensi, era, laba, nnaku n'ekizikiza, ekizikiza eky'okubonyaabonyezebwa; era baligoberwa mu kizikiza ekikutte. 23ISA009.001 Nevertheless the dimness shall not be such as was in her vexation, when at the first he lightly afflicted the land of Zebulun and the land of Naphtali, and afterward did more grievously afflict her by the way of the sea, beyond Jordan, in Galilee of the nations. %%% Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Edda yanyoomya ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera eky'oluvannyuma agifudde ya kitiibwa, awali ekkubo ery'ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'amawanga. 23ISA009.002 The people that walked in darkness have seen a great light: they that dwell in the land of the shadow of death, upon them hath the light shined. %%% Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekisiikirize ky'okufa, omusana gubaakidde bo. 23ISA009.003 Thou hast multiplied the nation, and not increased the joy: they joy before thee according to the joy in harvest, and as men rejoice when they divide the spoil. %%% Oyazizza eggwanga, oyongedde ku ssanyu lyabwe: basanyukira mu maaso go ng'essanyu bwe liri ery'omu makungula, abasajja nga bwe basanyuka nga bagereka omunyago. 23ISA009.004 For thou hast broken the yoke of his burden, and the staff of his shoulder, the rod of his oppressor, as in the day of Midian. %%% Kubanga ekikoligo ekyamuzitoowerera, n'omuggo ogw'oku kibegabega kye, lwe luga lw'omujoozi we, obimenye nga ku lunaku lwa Midiyaani. 23ISA009.005 For every battle of the warrior is with confused noise, and garments rolled in blood; but this shall be with burning and fuel of fire. %%% Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby'oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano, n'ebyambalo ebikulukuunyizibbwa mu musaayi, biriba bya kwokebwa bwokebwa, okuba enku ez'omuliro. 23ISA009.006 For unto us a child is born, unto us a son is given: and the government shall be upon his shoulder: and his name shall be called Wonderful, Counsellor, The mighty God, The everlasting Father, The Prince of Peace. %%% Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe. 23ISA009.007 Of the increase of his government and peace there shall be no end, upon the throne of David, and upon his kingdom, to order it, and to establish it with judgment and with justice from henceforth even for ever. The zeal of the LORD of hosts will perform this. %%% Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n'okubuwanirira n'omusango n'obutuukirivu okuva leero n'emirembe n'emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo. 23ISA009.008 The Lord sent a word into Jacob, and it hath lighted upon Israel. %%% Mukama yaweereza Yakobo ekigambo, ne kigwa ku Isiraeri. 23ISA009.009 And all the people shall know, even Ephraim and the inhabitant of Samaria, that say in the pride and stoutness of heart, %%% Era abantu bonna balimanya, Efulayimu n'abatuula mu Samaliya, aboogera n'amalala n'obukakanyavu bw'omutima nti 23ISA009.010 The bricks are fallen down, but we will build with hewn stones: the sycomores are cut down, but we will change them into cedars. %%% Amatoffaali gagudde, naye tulizimbya amayinja amateme: enkoma zitemeddwawo, naye tulizifuula ensambya. 23ISA009.011 Therefore the LORD shall set up the adversaries of Rezin against him, and join his enemies together; %%% Mukama kyaliva agulumiza abalabe ba Lezini okumulumba, era alisaakiriza abalabe be; 23ISA009.012 The Syrians before, and the Philistines behind; and they shall devour Israel with open mouth. For all this his anger is not turned away, but his hand is stretched out still. %%% Abasuuli mu maaso, n'Abafirisuuti emabega; era balirya Isiraeri n'akamwa akayasamye. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa. 23ISA009.013 For the people turneth not unto him that smiteth them, neither do they seek the LORD of hosts. %%% Naye abantu tebaakyukiranga oyo eyabakuba, so tebaanoonyanga Mukama wa ggye. 23ISA009.014 Therefore the LORD will cut off from Israel head and tail, branch and rush, in one day. %%% Mukama kyaliva asalako ku Isiraeri omutwe n'omukira, olukindo n'ekitoogo, ku lunaku lumu. 23ISA009.015 The ancient and honourable, he is the head; and the prophet that teacheth lies, he is the tail. %%% Omusajja omukadde era ow'ekitiibwa gwe mutwe; ne nnabbi ayigiriza eby'obulimba gwe mukira. 23ISA009.016 For the leaders of this people cause them to err; and they that are led of them are destroyed. %%% Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya; n'abo be bakulembera bazikirizibwa. 23ISA009.017 Therefore the LORD shall have no joy in their young men, neither shall have mercy on their fatherless and widows: for every one is an hypocrite and an evildoer, and every mouth speaketh folly. For all this his anger is not turned away, but his hand is stretched out still. %%% Mukama kyaliva alema okusanyukira abavubuka baabwe, so talisaasira baana baabwe abafiiriddwa bakitaabwe ne bannamwandu baabwe: kubanga buli muntu avvoola era akola ebibi, na buli kamwa koogera eby'obusiru. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako naye omukono gwe gukyagoloddwa. 23ISA009.018 For wickedness burneth as the fire: it shall devour the briers and thorns, and shall kindle in the thickets of the forest, and they shall mount up like the lifting up of smoke. %%% Kubanga obubi bwokya ng'omuliro; gumalawo emyeramannyo n'amaggwa: weewaawo, gukoleera mu bisaka eby'omu kibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka ne birinnya waggulu. 23ISA009.019 Through the wrath of the LORD of hosts is the land darkened, and the people shall be as the fuel of the fire: no man shall spare his brother. %%% Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi eyiiridde ddala: era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro; tewali asonyiwa muganda we. 23ISA009.020 And he shall snatch on the right hand, and be hungry; and he shall eat on the left hand, and they shall not be satisfied: they shall eat every man the flesh of his own arm: %%% Era omu alisika ku mukono ogwa ddyo, n'alumwa enjala; era alirya ku mukono ogwa kkono, so tebalikkuta: balirya buli muntu ennyama ey'onukono gwe ye: 23ISA009.021 Manasseh, Ephraim; and Ephraim, Manasseh: and they together shall be against Judah. For all this his anger is not turned away, but his hand is stretched out still. %%% Manase Efulayimu; ne Efulayimu Manase: era bombi wamu balikyawa Yuda. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa. 23ISA010.001 Woe unto them that decree unrighteous decrees, and that write grievousness which they have prescribed; %%% Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga butuukirivu, n'abawandiisi abawandiika obukyamu: 23ISA010.002 To turn aside the needy from judgment, and to take away the right from the poor of my people, that widows may be their prey, and that they may rob the fatherless! %%% okugoba abanaku baleme okusalirwa omusango, n'okubanyagako ebyabwe abaavu ab'omu bantu bange, bannamwandu babeere munyago gwabwe, era abafiiriddwa bakitaabwe babafuule omuyiggo gwabwe. 23ISA010.003 And what will ye do in the day of visitation, and in the desolation which shall come from far? to whom will ye flee for help? and where will ye leave your glory? %%% Era mulikola mutya ku lunaku olw'okujjirwa, ne mu kuzikirizibwa okuliva ewala? muliddukira eri ani okubeerwa? era mulireka wa ekitiibwa kyammwe? 23ISA010.004 Without me they shall bow down under the prisoners, and they shall fall under the slain. For all this his anger is not turned away, but his hand is stretched out still. %%% Balikutama bukutami wansi w'abasibe, era baligwa wansi w'abattiddwa. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa. 23ISA010.005 O Assyrian, the rod of mine anger, and the staff in their hand is mine indignation. %%% Ggwe Omwasuli, oluga olw'obusungu bwange, omuggo oguli mu ngalo zo kye kiruyi kyange! 23ISA010.006 I will send him against an hypocritical nation, and against the people of my wrath will I give him a charge, to take the spoil, and to take the prey, and to tread them down like the mire of the streets. %%% Ndimutuma okulumba eggwanga erivoola, era ndimulagira ku bantu baliko obusungu bwange, okunyaga omunyago, n'okunyaga omuyiggo, n’okubalinnyirira wansi ng'ebitoomi by'omu nguudo. 23ISA010.007 Howbeit he meaneth not so, neither doth his heart think so; but it is in his heart to destroy and cut off nations not a few. %%% Naye tagenderera kukola bw'atyo, so n'omutima gwe tegulowooza bwe gutyo; naye kiri mu mutima gwe okuzikiriza, n'okumalawo amawanga si matono. 23ISA010.008 For he saith, Are not my princes altogether kings? %%% Kubanga ayogera nti Abakulu bange bonna si bakabaka? 23ISA010.009 Is not Calno as Carchemish? is not Hamath as Arpad? is not Samaria as Damascus? %%% Kalino tekifaanana Kalukemisi? Kamasi tekifaanana Alupadi? Samaliya tekifaanana Ddamasiko? 23ISA010.010 As my hand hath found the kingdoms of the idols, and whose graven images did excel them of Jerusalem and of Samaria; %%% Ng'omukono gwange bwe gwatuuka ku nsi za bakabaka ezisinza ebifaananyi, ezaalina ebifaananyi ebibajje ebyasinga ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya; 23ISA010.011 Shall I not, as I have done unto Samaria and her idols, so do to Jerusalem and her idols? %%% nga bwe nnakola Samaliya ne sanamu zaakyo, sirikola bwe ntyo Yerusaalemi ne sanamu zaakyo? 23ISA010.012 Wherefore it shall come to pass, that when the Lord hath performed his whole work upon mount Zion and on Jerusalem, I will punish the fruit of the stout heart of the king of Assyria, and the glory of his high looks. %%% Kyekiriva kituuka, Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, me ndyoka mbonereza ebibala by'omutima omukakanyavu ogwa kabaka w’e Bwasuli, n'amalala g'amaaso ge amagulumivu. 23ISA010.013 For he saith, By the strength of my hand I have done it, and by my wisdom; for I am prudent: and I have removed the bounds of the people, and have robbed their treasures, and I have put down the inhabitants like a valiant man: %%% Kubanga yayogera nti Olw'amaanyi g'omukono gwange nakikola, n'olw'amagezi gange; kubanga ndi mukabakaba: era najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwabwe, ne ntoowaza ng'omusajja omuzira abo abatuula ku ntebe: 23ISA010.014 And my hand hath found as a nest the riches of the people: and as one gathereth eggs that are left, have I gathered all the earth; and there was none that moved the wing, or opened the mouth, or peeped. %%% era omukono gwange guvumbudde obugagga obw'amawanga ng'ekisu; era ng'omuntu bw'akuŋŋaanya amagi amazire, bwe ntyo bwe naakuŋŋaanyanga ensi zonna: so tewali eyayanjuluza ekiwaawaatiro, newakubadde eyayasamya akamwa, newakubadde eyakaaba. 23ISA010.015 Shall the axe boast itself against him that heweth therewith? or shall the saw magnify itself against him that shaketh it? as if the rod should shake itself against them that lift it up, or as if the staff should lift up itself, as if it were no wood. %%% Embazzi eryenyumiriza eri oyo agitemya? omusumeeno gulyekuza eri oyo agunyeenya? kwenkana oluga nga lunyeenyezza abo abalulonda, oba omuggo nga gusitudde atali muti. 23ISA010.016 Therefore shall the Lord, the Lord of hosts, send among his fat ones leanness; and under his glory he shall kindle a burning like the burning of a fire. %%% Mukama, Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obukovvu mu basajja be abagevvu; era wansi w'ekitiibwa kye we alikolera okwokya ng'okwokya kw'omuliro. 23ISA010.017 And the light of Israel shall be for a fire, and his Holy One for a flame: and it shall burn and devour his thorns and his briers in one day; %%% N'omusana gwa Isiraeri guliba mu kifo ky'omuliro, n'Omutukuvu we aliba mu kifo ky'okwaka: kale gulyokya gulimalawo amaggwa ge n'emyeramannyo gye ku lunaku lumu. 23ISA010.018 And shall consume the glory of his forest, and of his fruitful field, both soul and body: and they shall be as when a standard-bearer fainteth. %%% Era alimalawo ekitiibwa ky'ekibira kye, n'eky'ennimiro ye engimu, obulamu era n'omubiri: kale kiriba ng'omukwasi w'ebendera bw'azirika. 23ISA010.019 And the rest of the trees of his forest shall be few, that a child may write them. %%% N'emiti egy'omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono, omwana omuto n'okuyinza n'ayinza okugiwandiika. 23ISA010.020 And it shall come to pass in that day, that the remnant of Israel, and such as are escaped of the house of Jacob, shall no more again stay upon him that smote them; but shall stay upon the LORD, the Holy One of Israel, in truth. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima. 23ISA010.021 The remnant shall return, even the remnant of Jacob, unto the mighty God. %%% Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekirifikkawo ku Yakobo, eri Katonda ow'amaanyi. 23ISA010.022 For though thy people Israel be as the sand of the sea, yet a remnant of them shall return: the consumption decreed shall overflow with righteousness. %%% Kubanga abantu bo Isiraeri newakubadde nga baliba ng'omusenyu ogw'ennyanja, kitundu butundu ekirifikkawo ku bo kye kirikomawo: okutuukiriza kwateesebwa, okusukkirira n'omusango ogw'ensonga. 23ISA010.023 For the Lord GOD of hosts shall make a consumption, even determined, in the midst of all the land. %%% Kubanga okukomekkereza, era okwateesebwa, Mukama, Mukama ow'eggye kw'alikola wakati mu nsi yonna. 23ISA010.024 Therefore thus saith the Lord GOD of hosts, O my people that dwellest in Zion, be not afraid of the Assyrian: he shall smite thee with a rod, and shall lift up his staff against thee, after the manner of Egypt. %%% Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye nti Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli: newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugalulira omuggo gwe, ng'empisa y'e Misiri bw'eri. 23ISA010.025 For yet a very little while, and the indignation shall cease, and mine anger in their destruction. %%% Kubanga akaseera kakyali katono nnyo, okunyiiga kulyoke kutuukirizibwe n'obusungu bwange mu kuzikiriza kwabwe. 23ISA010.026 And the LORD of hosts shall stir up a scourge for him according to the slaughter of Midian at the rock of Oreb: and as his rod was upon the sea, so shall he lift it up after the manner of Egypt. %%% Awo Mukama ow'eggye alimuleetako ekibonoobono, nga bwe byali Midiyaani bwe yattirwa awali olwazi lwa Olebu: n'oluga lwe luliba ku nnyanja, era alirugalula ng'empisa y'e Misiri bw'eri. 23ISA010.027 And it shall come to pass in that day, that his burden shall be taken away from off thy shoulder, and his yoke from off thy neck, and the yoke shall be destroyed because of the anointing. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli, omugugu gwe guliva ku kibegabega kyo, n'ekikoligo kye mu bulago bwo, n'ekikoligo kirizikirizibwa olw'okufukibwako amafuta. 23ISA010.028 He is come to Aiath, he is passed to Migron; at Michmash he hath laid up his carriages: %%% Atuuse e Yayasi, ayise mu Miguloni; e Mikumasi gy'aterekera emigugu gye: 23ISA010.029 They are gone over the passage: they have taken up their lodging at Geba; Ramah is afraid; Gibeah of Saul is fled. %%% bavvuunuse awavvuunukirwa; basuze e Geba: Laama akankana; Gibeya wa Sawulo adduse. 23ISA010.030 Lift up thy voice, O daughter of Gallim: cause it to be heard unto Laish, O poor Anathoth. %%% Yogerera waggulu n'eddoboozi lyo, ggwe muwala wa Gallimu! wulira, ggwe Layisa! Ggwe Anasosi asaasirwa! 23ISA010.031 Madmenah is removed; the inhabitants of Gebim gather themselves to flee. %%% Madumena mudduse; abatuula mu Gebimu beekuŋŋaanya okudduka. 23ISA010.032 As yet shall he remain at Nob that day: he shall shake his hand against the mount of the daughter of Zion, the hill of Jerusalem. %%% Ku lunaku luno olwa leero anaasula Enobu: omukono gwe agugalulira olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi. 23ISA010.033 Behold, the Lord, the LORD of hosts, shall lop the bough with terror: and the high ones of stature shall be hewn down, and the haughty shall be humbled. %%% Laba, Mukama, Mukama ow'eggye, alitema amatabi n'entiisa n'abawanvu abawagguufu balitemerwa ddala, n'abagulumivu balikkakkanyizibwa. 23ISA010.034 And he shall cut down the thickets of the forest with iron, and Lebanon shall fall by a mighty one. %%% Era alimalawo n'ekyuma ebisaka eby'omu kibira, ne Lebanooni aligwa olw'ow'amaanyi. 23ISA011.001 And there shall come forth a rod out of the stem of Jesse, and a Branch shall grow out of his roots: %%% Era mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, n'ettabi eririva mu mmizi gye liribala ebibala: 23ISA011.002 And the spirit of the LORD shall rest upon him, the spirit of wisdom and understanding, the spirit of counsel and might, the spirit of knowledge and of the fear of the LORD; %%% n'omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw'amagezi n'okutegeera, omwoyo ogw'okuteesa n'amaanyi, omwoyo ogw'okumanya n'okutya Mukama; 23ISA011.003 And shall make him of quick understanding in the fear of the LORD: and he shall not judge after the sight of his eyes, neither reprove after the hearing of his ears: %%% n'okutya Mukama kw'alisanyukira: so taasalenga misango ng'okulaba kw'amaaso ge bwe kunaabanga, so taanenyenga ng'okuwulira kw'amatu ge bwe kunaabanga: 23ISA011.004 But with righteousness shall he judge the poor, and reprove with equity for the meek of the earth: and he shall smite the earth with the rod of his mouth, and with the breath of his lips shall he slay the wicked. %%% naye anaasaliranga omwavu emisango gya nsonga, era anaanenyanga n'obutuukirivu olw'abawombeefu abali ku nsi: era alikuba ensi n'omuggo ogw'omu kamwa ke, era alitta omubi n'omukka ogw'omu mimwa gye. 23ISA011.005 And righteousness shall be the girdle of his loins, and faithfulness the girdle of his reins. %%% N'obutuukirivu buliba lukoba lwa mu kiwato kye, n'obwesigwa buliba lukoba lwa mu mugongo gwe. 23ISA011.006 The wolf also shall dwell with the lamb, and the leopard shall lie down with the kid; and the calf and the young lion and the fatling together; and a little child shall lead them. %%% N'omusege gunaasulanga wamu n'omwana gw'endiga, n'engo eneegalamiranga wamu n'omwana gw'embuzi; n'ennyana n'omwana gw'empologoma n'ekya ssava wamu; n'omwana omuto alizikulembera. 23ISA011.007 And the cow and the bear shall feed; their young ones shall lie down together: and the lion shall eat straw like the ox. %%% N'ente n'eddubu ziririira wamu; abaana baazo baligalamira wamu: n'empologoma erirya omuddo ng'ente. 23ISA011.008 And the sucking child shall play on the hole of the asp, and the weaned child shall put his hand on the cockatrice' den. %%% N'omwana ayonka alizannyira ku kinnya eky'enswera, n'omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukoao gwe ku mpampagama y'essalambwa. 23ISA011.009 They shall not hurt nor destroy in all my holy mountain: for the earth shall be full of the knowledge of the LORD, as the waters cover the sea. %%% Tebaliruma newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu lwonna: kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ennyanja. 23ISA011.010 And in that day there shall be a root of Jesse, which shall stand for an ensign of the people; to it shall the Gentiles seek: and his rest shall be glorious. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli ekikolo kya Yese, ekiyimirira okuba ebendera ey'amawanga, eri oyo amawanga gye banaanoonya; n'ekifo kye eky'okuwummuliramu kiriba kitiibwa. 23ISA011.011 And it shall come to pass in that day, that the Lord shall set his hand again the second time to recover the remnant of his people, which shall be left, from Assyria, and from Egypt, and from Pathros, and from Cush, and from Elam, and from Shinar, and from Hamath, and from the islands of the sea. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alissaawo nate omukono gwe omulundi ogw'okubiri okukomyawo abalifikkawo ku bantu be abalisigalawo, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby'omu nnyanja. 23ISA011.012 And he shall set up an ensign for the nations, and shall assemble the outcasts of Israel, and gather together the dispersed of Judah from the four corners of the earth. %%% Era aliwanikira amawanga ebendera, era alikuŋŋaanya abaagobebwa mu Isiraeri, n'aleeta wamu abaasaasaanyizibwa ku Yuda okubaggya mu nsonda ennya ez'ensi. 23ISA011.013 The envy also of Ephraim shall depart, and the adversaries of Judah shall be cut off: Ephraim shall not envy Judah, and Judah shall not vex Ephraim. %%% Era obuggya bwa Efulayimu buliggwaawo, n'abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya, ne Yuda taliteganya Efulayimu. 23ISA011.014 But they shall fly upon the shoulders of the Philistines toward the west; they shall spoil them of the east together: they shall lay their hand upon Edom and Moab; and the children of Ammon shall obey them. %%% Era balibuuka ne bagwa ku kibegabega ky'Omufirisuuti ebugwanjuba; balyetaba okunyaga abaana b'ebuvanjuba: baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n'abaana ba Amoni balibagondera. 23ISA011.015 And the LORD shall utterly destroy the tongue of the Egyptian sea; and with his mighty wind shall he shake his hand over the river, and shall smite it in the seven streams, and make men go over dryshod. %%% Era Mukama alizikiririza ddala olulimi lw'ennyanja ey'e Misiri; era alikunkumulira omukono gwe ku Mugga n'empewo ye ekaza, n'agukuba n'agufuula emigga musanvu, n'asomosa abantu nga tebatobye bigere. 23ISA011.016 And there shall be an highway for the remnant of his people, which shall be left, from Assyria; like as it was to Israel in the day that he came up out of the land of Egypt. %%% Era waliba oluguudo eri abo abalifikkawo ku bantu be, abalisigalawo, okuva mu Bwasuli; nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku lwe yalinnyirako okuva mu nsi y'e Misiri. 23ISA012.001 And in that day thou shalt say, O LORD, I will praise thee: though thou wast angry with me, thine anger is turned away, and thou comfortedst me. %%% Era ku lunaku luli olyogera nti Naakwebaza, ai Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bukyuse, era onsanyusa. 23ISA012.002 Behold, God is my salvation; I will trust, and not be afraid: for the LORD JEHOVAH is my strength and my song; he also is become my salvation. %%% Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga ne ssitya: kubanga Mukama Yakuwa ge maanyi gange n'oluyimba; era ye afuuse obulokozi bwange. 23ISA012.003 Therefore with joy shall ye draw water out of the wells of salvation. %%% Kyemunaavanga musenanga n'essanyu amazzi mu nzizi ez'obulokozi. 23ISA012.004 And in that day shall ye say, Praise the LORD, call upon his name, declare his doings among the people, make mention that his name is exalted. %%% Era ku lunaku luli mulyogera nti Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe. 23ISA012.005 Sing unto the LORD; for he hath done excellent things: this is known in all the earth. %%% Mumuyimbire Mukama; kubanga akoze eby'ekitiibwa: ekyo kimanyibwe mu nsi yonna. 23ISA012.006 Cry out and shout, thou inhabitant of Zion: for great is the Holy One of Israel in the midst of thee. %%% Yogerera waggulu oleekaane, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu. 23ISA013.001 The burden of Babylon, which Isaiah the son of Amoz did see. %%% Omugugu gwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba. 23ISA013.002 Lift ye up a banner upon the high mountain, exalt the voice unto them, shake the hand, that they may go into the gates of the nobles. %%% Muwanike ebendera ku lusozi olw'obweru, mubayimusize eddoboozi, muwenye n'omukono, bayingire mu miryango egy'abakungu. 23ISA013.003 I have commanded my sanctified ones, I have also called my mighty ones for mine anger, even them that rejoice in my highness. %%% Ndagidde abawonge bange, weewaawo, mpise abasajja bange ab'amaanyi olw'obusungu bwange, abange abeenyumiriza n'amalala. 23ISA013.004 The noise of a multitude in the mountains, like as of a great people; a tumultuous noise of the kingdoms of nations gathered together: the LORD of hosts mustereth the host of the battle. %%% Oluyoogaano lw'ekibiina ku nsozi ng'olweggwanga eddene! oluyoogaano olw'okuleekaana kw'obwakabaka obw'amawanga nga gakuŋŋaanye! Mukama ow'eggye akuŋŋaanyizza eggye olw'olutalo. 23ISA013.005 They come from a far country, from the end of heaven, even the LORD, and the weapons of his indignation, to destroy the whole land. %%% Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eggulu, Mukama n'ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe, okuzikiriza ensi yonna. 23ISA013.006 Howl ye; for the day of the LORD is at hand; it shall come as a destruction from the Almighty. %%% Muwowoggane; kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna. 23ISA013.007 Therefore shall all hands be faint, and every man's heart shall melt: %%% Emikono gyonna kyegiriva giddirira na buli mutima gw'omuntu gulisaanuuka: 23ISA013.008 And they shall be afraid: pangs and sorrows shall take hold of them; they shall be in pain as a woman that travaileth: they shall be amazed one at another; their faces shall be as flames. %%% era balikeŋŋentererwa okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: baliwuniikirira bokka na bokka; amaaso gaabwe galiba maaso ga muliro. 23ISA013.009 Behold, the day of the LORD cometh, cruel both with wrath and fierce anger, to lay the land desolate: and he shall destroy the sinners thereof out of it. %%% Laba olunaku lwa Mukama lujja, olukambwe, nga lulina obusungu n'ekiruyi; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu. 23ISA013.010 For the stars of heaven and the constellations thereof shall not give their light: the sun shall be darkened in his going forth, and the moon shall not cause her light to shine. %%% Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi tegulyaka musana gwagwo. 23ISA013.011 And I will punish the world for their evil, and the wicked for their iniquity; and I will cause the arrogancy of the proud to cease, and will lay low the haughtiness of the terrible. %%% Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwabwe n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala, era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa. 23ISA013.012 I will make a man more precious than fine gold; even a man than the golden wedge of Ophir. %%% Ndifuula omusajja okuba ow'omuwendo okusinga ezaabu ennungi omusajja okusinga ezaabu ennungi eya Ofiri. 23ISA013.013 Therefore I will shake the heavens, and the earth shall remove out of her place, in the wrath of the LORD of hosts, and in the day of his fierce anger. %%% Kyendiva nkankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa okuva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow'eggye, ne ku lunaku olw'ekiruyi kye. 23ISA013.014 And it shall be as the chased roe, and as a sheep that no man taketh up: they shall every man turn to his own people, and flee every one into his own land. %%% Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa era ng'endiga ezitaliiko musumba, balikyuka buli muntu okudda mu bantu b'ewaabwe ye, era balidduka buli muntu mu nsi yaabwe ye. 23ISA013.015 Every one that is found shall be thrust through; and every one that is joined unto them shall fall by the sword. %%% Buli anaalabikanga anaafumitibwanga; na buli anaawambibwanga anaagwanga n'ekitala. 23ISA013.016 Their children also shall be dashed to pieces before their eyes; their houses shall be spoiled, and their wives ravished. %%% N'abaana baabwe abawere balimenyerwamenyerwa mu maaso gaabwe; ennyumba zaabwe zirinyagibwa, n'abakazi baabwe balikwatibwa lwa maanyi: 23ISA013.017 Behold, I will stir up the Medes against them, which shall not regard silver; and as for gold, they shall not delight in it. %%% Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaayo mwoyo eri effeeza, n'ezaabu tebaligisanyukira. 23ISA013.018 Their bows also shall dash the young men to pieces; and they shall have no pity on the fruit of the womb; their eye shall not spare children. %%% N'emitego gyabwe girimenyaamenya abavubuka so tebalisaasira zzadde lya lubuto; eriiso lyabwe teririsonyiwa baana bato. 23ISA013.019 And Babylon, the glory of kingdoms, the beauty of the Chaldees' excellency, shall be as when God overthrew Sodom and Gomorrah. %%% Ne Babulooni, ekitiibwa eky'obwakabaka, obulungi obw'amalala ag'Abakaludaaya, kiriba nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola. 23ISA013.020 It shall never be inhabited, neither shall it be dwelt in from generation to generation: neither shall the Arabian pitch tent there; neither shall the shepherds make their fold there. %%% Tekiisulibwengamu ennaku zonna, so tekiibeerwengamu emirembe n'emirembe: so n'Omuwalabu taasimbegayo weema; so n'abasumba tebaagalamizengayo nbuzi zaabwe. 23ISA013.021 But wild beasts of the desert shall lie there; and their houses shall be full of doleful creatures; and owls shall dwell there, and satyrs shall dance there. %%% Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebya zigeye binaaziniranga eyo. 23ISA013.022 And the wild beasts of the islands shall cry in their desolate houses, and dragons in their pleasant palaces: and her time is near to come, and her days shall not be prolonged. %%% N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ebinyumu: n'ekiseera kyakyo kiri kumpi n'okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako. 23ISA014.001 For the LORD will have mercy on Jacob, and will yet choose Israel, and set them in their own land: and the strangers shall be joined with them, and they shall cleave to the house of Jacob. %%% Kubanga Mukama alisaasira Yakobo, era, bw'alimala, n'alonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo: n'omugenyi alyegatta nabo, era balyetaba n'ennyumba ya Yakobo. 23ISA014.002 And the people shall take them, and bring them to their place: and the house of Israel shall possess them in the land of the LORD for servants and handmaids: and they shall take them captives, whose captives they were; and they shall rule over their oppressors. %%% N'amawanga balibatwala, ne babaleeta mu kifo kyabwe: n'ennyumba ya Isiraeri baba nabo mu nsi ya Mukama okuba baddu n'abazaana: era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga. 23ISA014.003 And it shall come to pass in the day that the LORD shall give thee rest from thy sorrow, and from thy fear, and from the hard bondage wherein thou wast made to serve, %%% Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwuunula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza, 23ISA014.004 That thou shalt take up this proverb against the king of Babylon, and say, How hath the oppressor ceased! the golden city ceased! %%% awo oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n'oyogera nti Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga kya zaabu nga kiweddewo! 23ISA014.005 The LORD hath broken the staff of the wicked, and the sceptre of the rulers. %%% Mukama amenye omuggo ogw'ababi, omuggo ogw'obwakabaka ogw'abo abafuga; 23ISA014.006 He who smote the people in wrath with a continual stroke, he that ruled the nations in anger, is persecuted, and none hindereth. %%% ogwakubanga amawanga obusungu olutata, ogwafuganga amawanga n'ekiruyi, ne guyigganyanga ne gutaziyizibwa muntu yenna. 23ISA014.007 The whole earth is at rest, and is quiet: they break forth into singing. %%% Ensi yonna ewummudde, era eradde: babaguka okuyimba. 23ISA014.008 Yea, the fir trees rejoice at thee, and the cedars of Lebanon, saying, Since thou art laid down, no feller is come up against us. %%% Weewaawo, enfugo zikusanyukira, emivule egy'oku Lebanooni, nga gyogera nti Kasookedde ogalamizibwa, tekulinnyanga ku ffe atutema. 23ISA014.009 Hell from beneath is moved for thee to meet thee at thy coming: it stirreth up the dead for thee, even all the chief ones of the earth; it hath raised up from their thrones all the kings of the nations. %%% Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe. 23ISA014.010 All they shall speak and say unto thee, Art thou also become weak as we? art thou become like unto us? %%% Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe? ofaanaanyizibwa nga ffe? 23ISA014.011 Thy pomp is brought down to the grave, and the noise of thy viols: the worm is spread under thee, and the worms cover thee. %%% Ekitiibwa kyo kissibwa e magombe, n'eddoboozi ly'ennanga zo: envunyu zaaliiriddwa wansi wo, era envunyu zikubisseeko. 23ISA014.012 How art thou fallen from heaven, O Lucifer, son of the morning! how art thou cut down to the ground, which didst weaken the nations! %%% Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeeye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa okutuuka ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! 23ISA014.013 For thou hast said in thine heart, I will ascend into heaven, I will exalt my throne above the stars of God: I will sit also upon the mount of the congregation, in the sides of the north: %%% N'oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiika obwa kkono: 23ISA014.014 I will ascend above the heights of the clouds; I will be like the most High. %%% ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo. 23ISA014.015 Yet thou shalt be brought down to hell, to the sides of the pit. %%% Naye olissibwa e magombe, ku njuyi ez'enkomerero ez'obunnya. 23ISA014.016 They that see thee shall narrowly look upon thee, and consider thee, saying, Is this the man that made the earth to tremble, that did shake kingdoms; %%% Abo abanaakulabanga banaakukeberanga, banaakulowoozanga, nga boogera nti Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka: 23ISA014.017 That made the world as a wilderness, and destroyed the cities thereof; that opened not the house of his prisoners? %%% eyazisanga ensi yonna, n'asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe be okudda ewaabwe? 23ISA014.018 All the kings of the nations, even all of them, lie in glory, every one in his own house. %%% Bakabaka bonna ab'amawanga, bonna bwe benkana, beebakira mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye. 23ISA014.019 But thou art cast out of thy grave like an abominable branch, and as the raiment of those that are slain, thrust through with a sword, that go down to the stones of the pit; as a carcase trodden under feet. %%% Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere. 23ISA014.020 Thou shalt not be joined with them in burial, because thou hast destroyed thy land, and slain thy people: the seed of evildoers shall never be renowned. %%% Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n'otta abantu bo; ezzadde ly'abo abakola obubi teriryogerwako ennaku zonna. 23ISA014.021 Prepare slaughter for his children for the iniquity of their fathers; that they do not rise, nor possess the land, nor fill the face of the world with cities. %%% Mutegekere abaana be okuttibwa olw'obutali butuukirivu bwa bakitaabwe; baleme okugolokoka, ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga. 23ISA014.022 For I will rise up against them, saith the LORD of hosts, and cut off from Babylon the name, and remnant, and son, and nephew, saith the LORD. %%% Nange ndibagolokokerako, bw'ayogera Mukama ow'eggye, ne mpemmenta mu Babulooni erinnya n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama. 23ISA014.023 I will also make it a possession for the bittern, and pools of water: and I will sweep it with the besom of destruction, saith the LORD of hosts. %%% Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n'ebidiba eby'amazzi: era ndikyera n'olweyo olw'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama ow'eggye. 23ISA014.024 The LORD of hosts hath sworn, saying, Surely as I have thought, so shall it come to pass; and as I have purposed, so shall it stand: %%% Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo; 23ISA014.025 That I will break the Assyrian in my land, and upon my mountains tread him under foot: then shall his yoke depart from off them, and his burden depart from off their shoulders. %%% ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyira n'ebigere ku nsozi zange: kale ekikoligo kye kiribavaako, n'omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe. 23ISA014.026 This is the purpose that is purposed upon the whole earth: and this is the hand that is stretched out upon all the nations. %%% Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna: era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna. 23ISA014.027 For the LORD of hosts hath purposed, and who shall disannul it? and his hand is stretched out, and who shall turn it back? %%% Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo? 23ISA014.028 In the year that king Ahaz died was this burden. %%% Mu mwaka kabaka Akkazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno. 23ISA014.029 Rejoice not thou, whole Palestina, because the rod of him that smote thee is broken: for out of the serpent's root shall come forth a cockatrice, and his fruit shall be a fiery flying serpent. %%% Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba: kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka. 23ISA014.030 And the firstborn of the poor shall feed, and the needy shall lie down in safety: and I will kill thy root with famine, and he shall slay thy remnant. %%% N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe: era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa. 23ISA014.031 Howl, O gate; cry, O city; thou, whole Palestina, art dissolved: for there shall come from the north a smoke, and none shall be alone in his appointed times. %%% Wowoggana, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuse, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna; kubanga mu bukiika obwa kkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa. 23ISA014.032 What shall one then answer the messengers of the nation? That the LORD hath founded Zion, and the poor of his people shall trust in it. %%% Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga? Nti Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira. 23ISA015.001 The burden of Moab. Because in the night Ar of Moab is laid waste, and brought to silence; because in the night Kir of Moab is laid waste, and brought to silence; %%% Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo; kubanga mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo. 23ISA015.002 He is gone up to Bajith, and to Dibon, the high places, to weep: Moab shall howl over Nebo, and over Medeba: on all their heads shall be baldness, and every beard cut off. %%% Ayambuse e Bayisi ne Diboni, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga: Mowaabu awowogganira Nebo ne Medeba: ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa. 23ISA015.003 In their streets they shall gird themselves with sackcloth: on the tops of their houses, and in their streets, every one shall howl, weeping abundantly. %%% Beesibira ebibukutu mu nguudo zaabwe: waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu awowoggana, ng'akaaba nnyo amaziga. 23ISA015.004 And Heshbon shall cry, and Elealeh: their voice shall be heard even unto Jahaz: therefore the armed soldiers of Moab shall cry out; his life shall be grievous unto him. %%% Ne Kesuboni alira, ne Ereyale; eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi: basserikale ba Mowaabu kyebava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye. 23ISA015.005 My heart shall cry out for Moab; his fugitives shall flee unto Zoar, an heifer of three years old: for by the mounting up of Luhith with weeping shall they go it up; for in the way of Horonaim they shall raise up a cry of destruction. %%% Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya: kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu okukaaba okw'okuzikirira. 23ISA015.006 For the waters of Nimrim shall be desolate: for the hay is withered away, the grass faileth, there is no green thing. %%% Kubanga amazzi ag'e Nimulimu galirekebwawo: kubanga omuddo guwotokedde ddala, omuddo omugonvu guggwaawo, tewali kintu kimera. 23ISA015.007 Therefore the abundance they have gotten, and that which they have laid up, shall they carry away to the brook of the willows. %%% Ebintu ebingi bye bafunye n'ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw'enzingu. 23ISA015.008 For the cry is gone round about the borders of Moab; the howling thereof unto Eglaim, and the howling thereof unto Beerelim. %%% Kubanga okukaaba kwetoolodde ensalo za Mowaabu; okuwowoggana kwakwo kutuuse e Yegulayimu, n'okuwowoggana kwakwo kutuuse e Beererimu. 23ISA015.009 For the waters of Dimon shall be full of blood: for I will bring more upon Dimon, lions upon him that escapeth of Moab, and upon the remnant of the land. %%% Kubanga amazzi ag'e Dimoni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Dimoni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi. 23ISA016.001 Send ye the lamb to the ruler of the land from Sela to the wilderness, unto the mount of the daughter of Zion. %%% Muweereze abaana b'endiga b'oyo afuga ensi okuva e Seera ekyolekera eddungu okutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni. 23ISA016.002 For it shall be, that, as a wandering bird cast out of the nest, so the daughters of Moab shall be at the fords of Arnon. %%% Kubanga olulituuka ng'ennyonyi ezaabula ng'ekisu ekyasaasaana bwe batyo bwe baliba bawala ba Mowaabu ku misomoko gya Alunoni. 23ISA016.003 Take counsel, execute judgment; make thy shadow as the night in the midst of the noonday; hide the outcasts; bewray not him that wandereth. %%% Teesa ebigambo, mala omusango; fuula ekisiikirize kyo okuba ng'ekiro wakati mu ttuntu: kweka abagobeddwa; tolyamu lukwe adaagana. 23ISA016.004 Let mine outcasts dwell with thee, Moab; be thou a covert to them from the face of the spoiler: for the extortioner is at an end, the spoiler ceaseth, the oppressors are consumed out of the land. %%% Abange abagobeddwa batuule naawe; Mowaabu, beera kiddukiro gy'ali mu maaso g'omunyazi: kubanga omukanga azikiridde, okunyaga kuwedde, abajoozi bakomye mu nsi. 23ISA016.005 And in mercy shall the throne be established: and he shall sit upon it in truth in the tabernacle of David, judging, and seeking judgment, and hasting righteousness. %%% N'entebe ey'obwakabaka eneenywezebwanga mu kusaasira, era walibaawo aligituulako mu mazima, mu weema ya Dawudi; ng'asala emisango, era ng'agoberera eby'ensonga, era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu. 23ISA016.006 We have heard of the pride of Moab; he is very proud: even of his haughtiness, and his pride, and his wrath: but his lies shall not be so. %%% Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga wa malala mangi nnyo; ekyejo kye n'amalala ge n'obusungu bwe; okwenyumiriza kwe tekuliimu. 23ISA016.007 Therefore shall Moab howl for Moab, every one shall howl: for the foundations of Kirhareseth shall ye mourn; surely they are stricken. %%% Mowaabu kyaliva awowogganira Mowaabu, buli muntu aliwowoggana: mulinakuwalira emigaati egya zabbibu egy'e Kirukaleseesi, nga mukubiddwa ddala. 23ISA016.008 For the fields of Heshbon languish, and the vine of Sibmah: the lords of the heathen have broken down the principal plants thereof, they are come even unto Jazer, they wandered through the wilderness: her branches are stretched out, they are gone over the sea. %%% Kubanga ennimiro ez'e Kesubooni ziwotoka, n'omuzabbibu ogw'e Sibuma; abakungu ab'amawanga bamenyedde ddala emiti gyagwo egyasinga obulungi; gyabuna okutuuka e Yazeri, gyatuuka mu ddungu; amatabi gaagwo gaalanda, gaasomoka ennyanja. 23ISA016.009 Therefore I will bewail with the weeping of Jazer the vine of Sibmah: I will water thee with my tears, O Heshbon, and Elealeh: for the shouting for thy summer fruits and for thy harvest is fallen. %%% Kyennaava nkaabira amaziga awamu n'okukaaba kwa Yazeri olw'omuzabbibu ogw'e Sibuma: naakufukirira amazzi n'amaziga gange, ggwe Kesubooni ne Ereyale: kubanga ku bibala byo eby'ekyengera ne ku bikungulwa byo kukubiddwako olube. 23ISA016.010 And gladness is taken away, and joy out of the plentiful field; and in the vineyards there shall be no singing, neither shall there be shouting: the treaders shall tread out no wine in their presses; I have made their vintage shouting to cease. %%% N'essanyu liggiddwawo, n'emizira giwedde mu nnimiro eŋŋimu; ne mu nsuku z'emizabbibu temuliba kuyimba, newakubadde eddoboozi ery'okusanyuka: tewaliba musogozi alisogolera omwenge mu masogolero; nkomezza emizira gy'abasogozi. 23ISA016.011 Wherefore my bowels shall sound like an harp for Moab, and mine inward parts for Kirharesh. %%% Ebyenda byange kyebiva bikaabira Mowaabu ng'ennanga, ne munda wange mmukaabira Kirukeresi. 23ISA016.012 And it shall come to pass, when it is seen that Moab is weary on the high place, that he shall come to his sanctuary to pray; but he shall not prevail. %%% Awo olulituuka, Mowaabu bw'alyeyanjula, bw'alyekooya ku kifo ekigulumivu, n'ajja mu watukuvu we okusaba, talisobola. 23ISA016.013 This is the word that the LORD hath spoken concerning Moab since that time. %%% Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby'edda. 23ISA016.014 But now the LORD hath spoken, saying, Within three years, as the years of an hireling, and the glory of Moab shall be contemned, with all that great multitude; and the remnant shall be very small and feeble. %%% Naye kaakano Mukama ayogedde nti Emyaka esatu nga teginnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonna ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono nnyo so tebaliba kintu. 23ISA017.001 The burden of Damascus. Behold, Damascus is taken away from being a city, and it shall be a ruinous heap. %%% Omugugu gwa Ddamasiko. Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga, era kiriba kifunvu eky'ebyagwa. 23ISA017.002 The cities of Aroer are forsaken: they shall be for flocks, which shall lie down, and none shall make them afraid. %%% Ebibuga bya Aloweri birekeddwawo: biriba bya mbuzi, ezinaagalamiranga so tewaabenga anaazikanga. 23ISA017.003 The fortress also shall cease from Ephraim, and the kingdom from Damascus, and the remnant of Syria: they shall be as the glory of the children of Israel, saith the LORD of hosts. %%% Era ekigo kirikoma mu Efulayimu, n'obwakabaka mu Ddamasiko, n'abalifikkawo ku Busuuli baliba ng'ekitiibwa ky'abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama ow'eggye. 23ISA017.004 And in that day it shall come to pass, that the glory of Jacob shall be made thin, and the fatness of his flesh shall wax lean. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli ekitiibwa kya Yakobo kirikendeezebwa, n'obugevvu bw'omubiri gwe bulikogga. 23ISA017.005 And it shall be as when the harvestman gathereth the corn, and reapeth the ears with his arm; and it shall be as he that gathereth ears in the valley of Rephaim. %%% Era kiriba ng'omukunguzi bw'akuŋŋaanya eŋŋaano emera n'omukono gwe ne gukungula ebirimba; weewaawo, kiriba ng'omuntu bw'alonda ebirimba mu kiwonvu kya Lefayimu. 23ISA017.006 Yet gleaning grapes shall be left in it, as the shaking of an olive tree, two or three berries in the top of the uppermost bough, four or five in the outmost fruitful branches thereof, saith the LORD God of Israel. %%% Naye mulisigalamu ebirondebwa, ng'okukubibwa kw'omuzeyituuni bwe kubeera, ebibala ebibiri oba bisatu waggulu ku busongezo obukomererayo, ebina oba bitaano ku busongezo bw'omuti omugimu, bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri. 23ISA017.007 At that day shall a man look to his Maker, and his eyes shall have respect to the Holy One of Israel. %%% Ku lunaku luli omuntu alitunuulira Omutonzi we, n’amaaso go galikyukira Omutukuvu owa Isiraeri. 23ISA017.008 And he shall not look to the altars, the work of his hands, neither shall respect that which his fingers have made, either the groves, or the images. %%% So talitunuulira byoto, omulimu gw'emikono gye, so talikyukira ekyo engalo ze kye zaakola, oba Baasera oba ebifaananyi by'enjuba. 23ISA017.009 In that day shall his strong cities be as a forsaken bough, and an uppermost branch, which they left because of the children of Israel: and there shall be desolation. %%% Ku lunaku luli ebibuga bye eby'amaanyi biriba ng'ebifulukwa mu kibira ne ku ntikko y'olusozi, ebyaviibwamu mu maaso g'abaana ba Isiraeri era biriba nsiko. 23ISA017.010 Because thou hast forgotten the God of thy salvation, and hast not been mindful of the rock of thy strength, therefore shalt thou plant pleasant plants, and shalt set it with strange slips: %%% Kubanga weerabidde Katonda ow'obulokozi bwo so tojjukidde lwazi lwa maanyi ge kyova osimbamu ebisimbe eby'okusanyusa, n'osigamu ebimera ebigenyi: 23ISA017.011 In the day shalt thou make thy plant to grow, and in the morning shalt thou make thy seed to flourish: but the harvest shall be a heap in the day of grief and of desperate sorrow. %%% ku lunaku lw'osimbirako ossaako olukomera, era enkya omerusa ensigo zo: naye ebikungulwa biddukira ku lunaku olw'okunakuwaliramu era olw'okukungubagiramu. 23ISA017.012 Woe to the multitude of many people, which make a noise like the noise of the seas; and to the rushing of nations, that make a rushing like the rushing of mighty waters! %%% Woowe, oluyoogaano lw'amawanga amangi, agawuluguma ng'okuwuluguma kw'ennyanja; n'okuwulukuka kw'amawanga agawulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi ag’amaanyi! 23ISA017.013 The nations shall rush like the rushing of many waters: but God shall rebuke them, and they shall flee far off, and shall be chased as the chaff of the mountains before the wind, and like a rolling thing before the whirlwind. %%% Amawanga galiwulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi amangi naye alibanenya, nabo baliddukira wala, era baligobebwa ng'ebisusunku eby'oku nsozi mu maaso g'empewo, era ng'enfuufu ey'akazimu mu mberi ya kibuyaga. 23ISA017.014 And behold at eveningtide trouble; and before the morning he is not. This is the portion of them that spoil us, and the lot of them that rob us. %%% Akawungeezi, laba, ntiisa; obudde nga tebunnakya tebaliiwo. Guno gwe mugabo gw'abo abatunyaga, era ye mpeera y'abo abatukwakwabira. 23ISA018.001 Woe to the land shadowing with wings, which is beyond the rivers of Ethiopia: %%% Woowe, ensi ey'okukwakwaya kw'ebiwaawaatiro, eri emitala w'emigga gya Kuusi: 23ISA018.002 That sendeth ambassadors by the sea, even in vessels of bulrushes upon the waters, saying, Go, ye swift messengers, to a nation scattered and peeled, to a people terrible from their beginning hitherto; a nation meted out and trodden down, whose land the rivers have spoiled! %%% etuma ababaka ku nnyanja mu bibaya ku mazzi, ng'eyogera nti Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eggwanvu era eggweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu! 23ISA018.003 All ye inhabitants of the world, and dwellers on the earth, see ye, when he lifteth up an ensign on the mountains; and when he bloweth a trumpet, hear ye. %%% Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mulabanga; era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga. 23ISA018.004 For so the LORD said unto me, I will take my rest, and I will consider in my dwelling place like a clear heat upon herbs, and like a cloud of dew in the heat of harvest. %%% Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu lw'omu biro eby'okukunguliramu. 23ISA018.005 For afore the harvest, when the bud is perfect, and the sour grape is ripening in the flower, he shall both cut off the sprigs with pruning hooks, and take away and cut down the branches. %%% Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema. 23ISA018.006 They shall be left together unto the fowls of the mountains, and to the beasts of the earth: and the fowls shall summer upon them, and all the beasts of the earth shall winter upon them. %%% Galirekerwa wamu ennyonyi ez'amaddu ez'oku nsozi n'ensolo ez'ensi: era ennyonyi ez'amaddu zirigatuulako mu kyeya, n'ensolo zonna ez'ensi zirigabeerako nu ttoggo. 23ISA018.007 In that time shall the present be brought unto the LORD of hosts of a people scattered and peeled, and from a people terrible from their beginning hitherto; a nation meted out and trodden under foot, whose land the rivers have spoiled, to the place of the name of the LORD of hosts, the mount Zion. %%% Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye eky'abantu abawanvu era abaweweeu, n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu, eri ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye, olusozi Sayuuni. 23ISA019.001 The burden of Egypt. Behold, the LORD rideth upon a swift cloud, and shall come into Egypt: and the idols of Egypt shall be moved at his presence, and the heart of Egypt shall melt in the midst of it. %%% Omugugu gwa Misiri. Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekiyita amangu n'ajja mu Misiri: n'ebifaananyi eby'e Misiri birinyeenyezebwa mu maaso ge, omutima gwa Misiri gulisaanuuka mu yo wakati. 23ISA019.002 And I will set the Egyptians against the Egyptians: and they shall fight every one against his brother, and every one against his neighbour; city against city, and kingdom against kingdom. %%% Era ndirwanya Abamisiri n'Abamisiri: era balirwaana buli muntu ne muganda we; na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n'ekibuga, obwakabaka n'obwakabaka. 23ISA019.003 And the spirit of Egypt shall fail in the midst thereof; and I will destroy the counsel thereof: and they shall seek to the idols, and to the charmers, and to them that have familiar spirits, and to the wizards. %%% N'omwoyo gwa Misiri guliggwaamu wakati mu yo; nange nditta okuteesa kwayo: era baliragulwa eri ebifaananyi, n'eri abasamize, n'eri abo abaliko emizimu, n'eri abalogo. 23ISA019.004 And the Egyptians will I give over into the hand of a cruel lord; and a fierce king shall rule over them, saith the Lord, the LORD of hosts. %%% Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw'omwami omukambwe; era kabaka omukanga alibafuga, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. 23ISA019.005 And the waters shall fail from the sea, and the river shall be wasted and dried up. %%% N'amazzi galikendeera mu nnyanja, n'omugga guliweebuuka ne gukala. 23ISA019.006 And they shall turn the rivers far away; and the brooks of defence shall be emptied and dried up: the reeds and flags shall wither. %%% N'emigga giriwunya; obugga obw'e Misiri bulikeewa ne bukala: ebitoogo n'essaalu biriwotoka. 23ISA019.007 The paper reeds by the brooks, by the mouth of the brooks, and every thing sown by the brooks, shall wither, be driven away, and be no more. %%% Amalundiro agali ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebisigibwa ku Kiyira, birikala, birigobebwawo, so tebiribaawo nate. 23ISA019.008 The fishers also shall mourn, and all they that cast angle into the brooks shall lament, and they that spread nets upon the waters shall languish. %%% Era n'abavubi balikaaba, n'abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balinakuwala, n'abo abasuula ebiragala mu mazzi baliggwaamu amaanyi. 23ISA019.009 Moreover they that work in fine flax, and they that weave networks, shall be confounded. %%% Era nate abo abakola omulimu ogw'obugoogwa obusunsule, n'abo abaluka engoye enjeru, balikwatibwa ensonyi. 23ISA019.010 And they shall be broken in the purposes thereof, all that make sluices and ponds for fish. %%% N'empagi zaayo zirimenyekamenyeka, abo bonna abakolera empeera balinakuwala mu myoyo. 23ISA019.011 Surely the princes of Zoan are fools, the counsel of the wise counsellors of Pharaoh is become brutish: how say ye unto Pharaoh, I am the son of the wise, the son of ancient kings? %%% Abakulu ab'e Zowani basiruwalidde ddala; okuteesa kw'abateesa ba Falaawo abakiza amagezi kufuuse ng'okw'ensolo: mugamba mutya Falaawo nti Ndi mwana wa bagezi, omwana wa bassekabaka ab'edda? 23ISA019.012 Where are they? where are thy wise men? and let them tell thee now, and let them know what the LORD of hosts hath purposed upon Egypt. %%% Kale nno abasajja bo ab'amagezi bali ludda wa? era bakubuulire kaakano; era bategeere Mukama ow'eggye ky'ateesezza ku Misiri. 23ISA019.013 The princes of Zoan are become fools, the princes of Noph are deceived; they have also seduced Egypt, even they that are the stay of the tribes thereof. %%% Abakulu ab'e Zowani basiruwadde, abakulu ab'e Noofu balimbiddwa; ejjinja ery'oku nsonda ery'ebika byayo, abo be bakyamizza Misiri. 23ISA019.014 The LORD hath mingled a perverse spirit in the midst thereof: and they have caused Egypt to err in every work thereof, as a drunken man staggereth in his vomit. %%% Mukama atadde omwoyo ogw'obubambaavu wakati mu yo: era bakyamizza Misiri mu buli mulimu gwayo, ng'omutamiivu atagatta ng'asesema. 23ISA019.015 Neither shall there be any work for Egypt, which the head or tail, branch or rush, may do. %%% So tewaliba mulimu gwonna gwa Misiri oguyinzika okukolebwa omutwe oba mukira, olusansa oba kitoogo. 23ISA019.016 In that day shall Egypt be like unto women: and it shall be afraid and fear because of the shaking of the hand of the LORD of hosts, which he shaketh over it. %%% Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng'abakazi: era erikankana eritya olw'okukunkumula kw'omukono gwa Mukama ow'eggye, gw'akunkumulira ku yo. 23ISA019.017 And the land of Judah shall be a terror unto Egypt, every one that maketh mention thereof shall be afraid in himself, because of the counsel of the LORD of hosts, which he hath determined against it. %%% N'ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anaagibuulirwangako anaatyanga, olw'okuteesa kwa Mukama ow'eggye, kw'ateesa ku yo. 23ISA019.018 In that day shall five cities in the land of Egypt speak the language of Canaan, and swear to the LORD of hosts; one shall be called, The city of destruction. %%% Ku lunaku luli waliba ebibuga bitaano mu nsi y'e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, ne birayirira Mukama ow'eggye; ekimu kiriyitibwa nti Kibuga kya kuzikirira. 23ISA019.019 In that day shall there be an altar to the LORD in the midst of the land of Egypt, and a pillar at the border thereof to the LORD. %%% Ku lunaku luli waliba ekyoto eri Mukama wakati mu nsi y'e Misiri, n'empagi eriba ku nsalo yaayo eri Mukama. 23ISA019.020 And it shall be for a sign and for a witness unto the LORD of hosts in the land of Egypt: for they shall cry unto the LORD because of the oppressors, and he shall send them a saviour, and a great one, and he shall deliver them. %%% Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola. 23ISA019.021 And the LORD shall be known to Egypt, and the Egyptians shall know the LORD in that day, and shall do sacrifice and oblation; yea, they shall vow a vow unto the LORD, and perform it. %%% Era Mukama alimanyibwa Misiri, n'Abamisiri balimanya Mukama ku lunaku luli; weewaawo, balisinza ne ssaddaaka n'ekitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama, era balibutuukiriza. 23ISA019.022 And the LORD shall smite Egypt: he shall smite and heal it: and they shall return even to the LORD, and he shall be intreated of them, and shall heal them. %%% Era Mukama alikuba Misiri, ng'akuba era ng'awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo, era alibawonya. 23ISA019.023 In that day shall there be a highway out of Egypt to Assyria, and the Assyrian shall come into Egypt, and the Egyptian into Assyria, and the Egyptians shall serve with the Assyrians. %%% Ku lunaku luli waliba oluguudo oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n'Omwasuli alijja mu Misiri, n'Omumisiri mu Bwasuli; n'Abamisiri balisinziza wamu n'Abaasuli. 23ISA019.024 In that day shall Israel be the third with Egypt and with Assyria, even a blessing in the midst of the land: %%% Ku lunaku luli Isiraeri aliba wa kusatu wamu ne Misiri n'Obwasuli, omukisa wakati mu nsi: 23ISA019.025 Whom the LORD of hosts shall bless, saying, Blessed be Egypt my people, and Assyria the work of my hands, and Israel mine inheritance. %%% kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange. 23ISA020.001 In the year that Tartan came unto Ashdod, (when Sargon the king of Assyria sent him,) and fought against Ashdod, and took it; %%% Mu mwaka Talutani mwe yajjira e Asudodi, Salugoni kabaka w'e Bwasuli bwe yamugaba, n'alwana ne Asudodi n'akimenya; 23ISA020.002 At the same time spake the LORD by Isaiah the son of Amoz, saying, Go and loose the sackcloth from off thy loins, and put off thy shoe from thy foot. And he did so, walking naked and barefoot. %%% mu biro ebyo Mukama n'ayogerera mu Isaaya mutabani wa Amozi, nti Genda osumulule ekibukutu mu kiwato kyo era onaanule engatto yo mu kigere kyo. N'akola bw'atyo ng'atambula bwereere nga talina na ngatto. 23ISA020.003 And the LORD said, Like as my servant Isaiah hath walked naked and barefoot three years for a sign and wonder upon Egypt and upon Ethiopia; %%% Mukama n'ayogera nti Ng'omuddu wange Isaaya bwe yatambulira emyaka esatu obwereere nga talina na ngatto okuba akabonero n'ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; 23ISA020.004 So shall the king of Assyria lead away the Egyptians prisoners, and the Ethiopians captives, young and old, naked and barefoot, even with their buttocks uncovered, to the shame of Egypt. %%% bw'atyo kabaka w'e Bwasuli bw'alitwalira ddala abasibe ab'e Misiri, n'abo abagobebwa ab'e Kuusi, abato n'abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, n'amatako gaabwe nga tegabikkiddwako, okukwasa Misiri ensonyi. 23ISA020.005 And they shall be afraid and ashamed of Ethiopia their expectation, and of Egypt their glory. %%% Era balikeŋŋentererwa balikwatibwa ensonyi, olwa Kuusi essuubi lyabwe, n'olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. 23ISA020.006 And the inhabitant of this isle shall say in that day, Behold, such is our expectation, whither we flee for help to be delivered from the king of Assyria: and how shall we escape? %%% N'oyo atuula ku ttale lino ery'ennyanja alyogerera ku lunaku luli nti Laba, bwe lifaanana bwe lityo essuubi lyaffe, gye twaddukira okubeerwa okulokoka eri kabaka w’e Bwasuli: naffe tuliwona tutya ffe? 23ISA021.001 The burden of the desert of the sea. As whirlwinds in the south pass through; so it cometh from the desert, from a terrible land. %%% Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiika obwa ddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa. 23ISA021.002 A grievous vision is declared unto me; the treacherous dealer dealeth treacherously, and the spoiler spoileth. Go up, O Elam: besiege, O Media; all the sighing thereof have I made to cease. %%% Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n'omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu: zingiza, ggwe Obumeedi; okussa ebikkowe kwayo kwonna nkukomezza. 23ISA021.003 Therefore are my loins filled with pain: pangs have taken hold upon me, as the pangs of a woman that travaileth: I was bowed down at the hearing of it; I was dismayed at the seeing of it. %%% Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala: nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋetereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba. 23ISA021.004 My heart panted, fearfulness affrighted me: the night of my pleasure hath he turned into fear unto me. %%% Omutima gwange guwejjawejja, okwesisiwala kunkanze: ekiro kye nnali neegomba kifuuse gye ndi kukankana. 23ISA021.005 Prepare the table, watch in the watchtower, eat, drink: arise, ye princes, and anoint the shield. %%% Bategeka emmeeza, bassaswo abakuumi, balya, banywa: mugolokoke, mmwe abakulu, musiige amafuta ku ngabo. 23ISA021.006 For thus hath the LORD said unto me, Go, set a watchman, let him declare what he seeth. %%% Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'analaba: 23ISA021.007 And he saw a chariot with a couple of horsemen, a chariot of asses, and a chariot of camels; and he hearkened diligently with much heed: %%% era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi. 23ISA021.008 And he cried, A lion: My lord, I stand continually upon the watchtower in the daytime, and I am set in my ward whole nights: %%% N'akaaba ng'empologoma nti Ai Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi muggalire. 23ISA021.009 And, behold, here cometh a chariot of men, with a couple of horsemen. And he answered and said, Babylon is fallen, is fallen; and all the graven images of her gods he hath broken unto the ground. %%% era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu. N'addamu n'ayogera nti Babulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bimenyese okutuuka ku ttaka. 23ISA021.010 O my threshing, and the corn of my floor: that which I have heard of the LORD of hosts, the God of Israel, have I declared unto you. %%% Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange: ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde. 23ISA021.011 The burden of Dumah. He calleth to me out of Seir, Watchman, what of the night? Watchman, what of the night? %%% Omugugu gwa Duuma. Waliwo ampita ng'ayima ku Seyiri nti Omukuumi, eby'ekiro bitya? Omukuumi, eby'ekiro bitya? 23ISA021.012 The watchman said, The morning cometh, and also the night: if ye will enquire, enquire ye: return, come. %%% Omukuumi n'ayogera nti Enkya ejja, era n'ekiro: bwe mwagala okubuuza, mubuuze: mukyuke mujje. 23ISA021.013 The burden upon Arabia. In the forest in Arabia shall ye lodge, O ye travelling companies of Dedanim. %%% Omugugu oguli ku Buwalabu. Mu kibira mu Buwalabu mwe mulisula, mmwe ebibiina ebya Abadedeni ebitambula. 23ISA021.014 The inhabitants of the land of Tema brought water to him that was thirsty, they prevented with their bread him that fled. %%% Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetera amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe. 23ISA021.015 For they fled from the swords, from the drawn sword, and from the bent bow, and from the grievousness of war. %%% Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego omunaanule, n'obubi bw'entalo. 23ISA021.016 For thus hath the LORD said unto me, Within a year, according to the years of an hireling, and all the glory of Kedar shall fail: %%% Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo: 23ISA021.017 And the residue of the number of archers, the mighty men of the children of Kedar, shall be diminished: for the LORD God of Israel hath spoken it. %%% n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaaayi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde. 23ISA022.001 The burden of the valley of vision. What aileth thee now, that thou art wholly gone up to the housetops? %%% Omugugu ogw'ekiwonvu eky'okwolesebwa. Obadde otya kaakano, n'okulianya n'olinnyira ddala waggulu ku nnyumba? 23ISA022.002 Thou that art full of stirs, a tumultuous city, a joyous city: thy slain men are not slain with the sword, nor dead in battle. %%% Ggwe ajjudde okuleekaana, ekibuga eky'oluyoogaano, ekibuga eky'essanyu; ababo abattibwa tebattibwa na kitala, so tebafiiridde mu ntalo. 23ISA022.003 All thy rulers are fled together, they are bound by the archers: all that are found in thee are bound together, which have fled from far. %%% Abakufuga bonna baddukira wamu, baasibibwa abalasi: bonna abaasangibwa ku babo baasibirwa wamu, baddukira wala. 23ISA022.004 Therefore said I, Look away from me; I will weep bitterly, labour not to comfort me, because of the spoiling of the daughter of my people. %%% Kyennava njogera nti Mukyuse amaaso gammwe obutandaba, naakaaba nnyo amaziga; temutegana kunsanyusa olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange. 23ISA022.005 For it is a day of trouble, and of treading down, and of perplexity by the Lord GOD of hosts in the valley of vision, breaking down the walls, and of crying to the mountains. %%% Kubanga lwe lunaku olw'okukeŋŋentererwako era olw'okulinnyirirwako, era olw'okubuusizabuusizaako, oluva eri Mukama, Mukama ow'eggye mu kiwonvu eky'okwolesebwa; okumenyamenya bbugwe, n'okukaaba eri ensozi. 23ISA022.006 And Elam bare the quiver with chariots of men and horsemen, and Kir uncovered the shield. %%% Eramu n'ayambalira omufuko, wamu n'amagaali ag'abasajja n'abeebagala embalaasi; Kiira n'asabuukulula engabo. 23ISA022.007 And it shall come to pass, that thy choicest valleys shall be full of chariots, and the horsemen shall set themselves in array at the gate. %%% Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n'abeebagala embalaasi, ne batalira mu mulyango. 23ISA022.008 And he discovered the covering of Judah, and thou didst look in that day to the armour of the house of the forest. %%% N'aggyawo ekibikka ku Yuda; n'otunuulira ku lunaku luli ebyokulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira. 23ISA022.009 Ye have seen also the breaches of the city of David, that they are many: and ye gathered together the waters of the lower pool. %%% Ne mulaba ebituli ebyawagulwa mu kibuga kya Dawudi, nga bingi: ne mukuŋŋaanya amazzi ag'ekidiba ekya wansi. 23ISA022.010 And ye have numbered the houses of Jerusalem, and the houses have ye broken down to fortify the wall. %%% Ne mubala ennyumba ez'omu Yerusaalemi, ne mumenyaamenya ennyumba okunyweza bbugwe. 23ISA022.011 Ye made also a ditch between the two walls for the water of the old pool: but ye have not looked unto the maker thereof, neither had respect unto him that fashioned it long ago. %%% Era ne musimira ekidiba amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi: naye ne mutatunuulira oyo eyagira kino, so temwalowooza oyo eyakikola edda ennyo. 23ISA022.012 And in that day did the Lord GOD of hosts call to weeping, and to mourning, and to baldness, and to girding with sackcloth: %%% Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye, n'ayita abantu okukaaba amaziga n'okuwuubaala n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu: 23ISA022.013 And behold joy and gladness, slaying oxen, and killing sheep, eating flesh, and drinking wine: let us eat and drink; for to morrow we shall die. %%% era, laba ssanyu na kujaguza, kutta nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge: tulye tunywe kubanga enkya tunaafa. 23ISA022.014 And it was revealed in mine ears by the LORD of hosts, Surely this iniquity shall not be purged from you till ye die, saith the Lord GOD of hosts. %%% Mukama ow'eggye ne yeebikkulira mu matu gange nti Mazima obutali butuukirivu buno tebulirongoosebwa okubavaako okutuusa lwe mulifa, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. 23ISA022.015 Thus saith the Lord GOD of hosts, Go, get thee unto this treasurer, even unto Shebna, which is over the house, and say, %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama; Mukama ow'eggye, nti Weegendere eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w'ennyumba, oyogere nti 23ISA022.016 What hast thou here? and whom hast thou here, that thou hast hewed thee out a sepulchre here, as he that heweth him out a sepulchre on high, and that graveth an habitation for himself in a rock? %%% Okola ki wano? era ani gw'olina wano n'okwebajjira ne weebajjira wano entaana? ng'omubajjira entaana waggulu, nga yeetemera ennyumba mu lwazi! 23ISA022.017 Behold, the LORD will carry thee away with a mighty captivity, and will surely cover thee. %%% Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi ng'omusajja ow'amaanyi; weewaawo, alikusabikira ddala. 23ISA022.018 He will surely violently turn and toss thee like a ball into a large country: there shalt thou die, and there the chariots of thy glory shall be the shame of thy lord's house. %%% Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo. 23ISA022.019 And I will drive thee from thy station, and from thy state shall he pull thee down. %%% Nange ndikuggya mu bwami bwo, era alikussa okuva mu bukulu bwo. 23ISA022.020 And it shall come to pass in that day, that I will call my servant Eliakim the son of Hilkiah: %%% Awo ku lunaku luli ndiyita omuddu wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya: 23ISA022.021 And I will clothe him with thy robe, and strengthen him with thy girdle, and I will commit thy government into his hand: and he shall be a father to the inhabitants of Jerusalem, and to the house of Judah. %%% era ndimwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo, era ndimuteresa okufuga kwo mu mukono gwe: era aliba kitaabwe eri abo abatuula mu Yerusaalemi n'eri ennyumba ya Yuda. 23ISA022.022 And the key of the house of David will I lay upon his shoulder; so he shall open, and none shall shut; and he shall shut, and none shall open. %%% N'ekisumuluzo eky'ennyumba ya Dawudi ndikiteeka ku kibegabega kye; era aliggulawo so tewaliba aggalawo; era aliggalawo so tewaliba aggulawo. 23ISA022.023 And I will fasten him as a nail in a sure place; and he shall be for a glorious throne to his father's house. %%% Era ndimukomerera ng'enninga mu kifo ekinywevu; era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 23ISA022.024 And they shall hang upon him all the glory of his father's house, the offspring and the issue, all vessels of small quantity, from the vessels of cups, even to all the vessels of flagons. %%% Era balimuwanikako ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, ab'enda n'ezzadde, buli kintu ekitono, okuva ku bukompe okutuuka ku bita byonna. 23ISA022.025 In that day, saith the LORD of hosts, shall the nail that is fastened in the sure place be removed, and be cut down, and fall; and the burden that was upon it shall be cut off: for the LORD hath spoken it. %%% Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo ekinywevu erisimbuka; era eritemebwawo n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako; kubanga Mukama akyogedde. 23ISA023.001 The burden of Tyre. Howl, ye ships of Tarshish; for it is laid waste, so that there is no house, no entering in: from the land of Chittim it is revealed to them. %%% Omugugu gwa Ttuulo. Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi; kubanga kizise, obutabaamu nnyumba newakubadde okuyingiramu; bakibikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu. 23ISA023.002 Be still, ye inhabitants of the isle; thou whom the merchants of Zidon, that pass over the sea, have replenished. %%% Musirike, mmwe abatuula ku kizinga; ggwe abasuubuzi ab’e Zidoni abawunguka ennyanja gwe bajjuza. 23ISA023.003 And by great waters the seed of Sihor, the harvest of the river, is her revenue; and she is a mart of nations. %%% Era ku mazzi amangi ensigo za Sikoli, ebikungulwa bya Kiyira, bye byali amagoba ge; era oyo ye yali akatale k'amawanga. 23ISA023.004 Be thou ashamed, O Zidon: for the sea hath spoken, even the strength of the sea, saying, I travail not, nor bring forth children, neither do I nourish up young men, nor bring up virgins. %%% Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala. 23ISA023.005 As at the report concerning Egypt, so shall they be sorely pained at the report of Tyre. %%% Ebigambo bwe birituuka e Misiri, balinakuwalira nnyo ebigambo eby'e Ttuulo. 23ISA023.006 Pass ye over to Tarshish; howl, ye inhabitants of the isle. %%% Muwunguke mugende e Talusiisi; muwowoggane, mmwe abatuula ku kizinga. 23ISA023.007 Is this your joyous city, whose antiquity is of ancient days? her own feet shall carry her afar off to sojourn. %%% Kino kye kibuga kyammwe eky'essanyu ekimaze emyaka emingi era ebigere byakyo ebyakitwalanga mu bitundu eby'ewala olw'obubudamo? 23ISA023.008 Who hath taken this counsel against Tyre, the crowning city, whose merchants are princes, whose traffickers are the honourable of the earth? %%% Ani ateesezza kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi? 23ISA023.009 The LORD of hosts hath purposed it, to stain the pride of all glory, and to bring into contempt all the honourable of the earth. %%% Mukama ow'eggye ye akiteesezza, okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna, okunyoomesa ab'ebitiibwa bonna mu nsi. 23ISA023.010 Pass through thy land as a river, O daughter of Tarshish: there is no more strength. %%% Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba olukusiba. 23ISA023.011 He stretched out his hand over the sea, he shook the kingdoms: the LORD hath given a commandment against the merchant city, to destroy the strong holds thereof. %%% Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka: Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu. 23ISA023.012 And he said, Thou shalt no more rejoice, O thou oppressed virgin, daughter of Zidon: arise, pass over to Chittim; there also shalt thou have no rest. %%% N'ayogera nti Tokyeyongera kusanyuka, ggwe muwala wa Zidoni ajoogebwa: golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula. 23ISA023.013 Behold the land of the Chaldeans; this people was not, till the Assyrian founded it for them that dwell in the wilderness: they set up the towers thereof, they raised up the palaces thereof; and he brought it to ruin. %%% Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu: baazimba ebigo byabwe, baasuula amayumba gaamu; yabizikiriza. 23ISA023.014 Howl, ye ships of Tarshish: for your strength is laid waste. %%% Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi: kubanga ekigo kyammwe kizise. 23ISA023.015 And it shall come to pass in that day, that Tyre shall be forgotten seventy years, according to the days of one king: after the end of seventy years shall Tyre sing as an harlot. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu, ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi. 23ISA023.016 Take an harp, go about the city, thou harlot that hast been forgotten; make sweet melody, sing many songs, that thou mayest be remembered. %%% Ddira ennanga otambuletambule mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabirwa; kuba bulungi ennanga, oyimbe ennyimba nnyingi, olyoke ojjukirwe. 23ISA023.017 And it shall come to pass after the end of seventy years, that the LORD will visit Tyre, and she shall turn to her hire, and shall commit fornication with all the kingdoms of the world upon the face of the earth. %%% Awo olulituuka emyaka nsanvu nga giweddeko Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna. 23ISA023.018 And her merchandise and her hire shall be holiness to the LORD: it shall not be treasured nor laid up; for her merchandise shall be for them that dwell before the LORD, to eat sufficiently, and for durable clothing. %%% N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba butukuvu eri Mukama: tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebigumu. 23ISA024.001 Behold, the LORD maketh the earth empty, and maketh it waste, and turneth it upside down, and scattereth abroad the inhabitants thereof. %%% Laba, Mukama ensi agimalamu byonna, era agizisa, era agivuunika, era asaasaanyiza ddala abagituulamu. 23ISA024.002 And it shall be, as with the people, so with the priest; as with the servant, so with his master; as with the maid, so with her mistress; as with the buyer, so with the seller; as with the lender, so with the borrower; as with the taker of usury, so with the giver of usury to him. %%% Era olulituuka ng'abantu bwe baliba, bw'atyo kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'aliba, bw'atyo mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'aliba, bw'atyo mugole we bw'aliba; ng'omuguzi bw'aliba, bw'atyo omutunzi bw'aliba; ng'awola bw'aliba, bw'atyo eyeewola bw'aliba; ng'aweebwa amagoba bw'aliba, bw'atyo amuwa amagoba bw'aliba. 23ISA024.003 The land shall be utterly emptied, and utterly spoiled: for the LORD hath spoken this word. %%% Ensi erimalirwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala; kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo. 23ISA024.004 The earth mourneth and fadeth away, the world languisheth and fadeth away, the haughty people of the earth do languish. %%% Ensi ewuubaala era esaanuuka, ettaka liggwaamu amaanyi era lisaanuuka, abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi. 23ISA024.005 The earth also is defiled under the inhabitants thereof; because they have transgressed the laws, changed the ordinance, broken the everlasting covenant. %%% Era ensi esiigiddwako empitambi wansi w'abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo. 23ISA024.006 Therefore hath the curse devoured the earth, and they that dwell therein are desolate: therefore the inhabitants of the earth are burned, and few men left. %%% Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze: abatuula mu nsi kyebava bookebwa, abantu ne basigala batono. 23ISA024.007 The new wine mourneth, the vine languisheth, all the merryhearted do sigh. %%% Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe. 23ISA024.008 The mirth of tabrets ceaseth, the noise of them that rejoice endeth, the joy of the harp ceaseth. %%% Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery'ennanga likoma. 23ISA024.009 They shall not drink wine with a song; strong drink shall be bitter to them that drink it. %%% Tebalinywa mwenge nga bayimba; ekitamiiza kirikaayirira abo abakinywa. 23ISA024.010 The city of confusion is broken down: every house is shut up, that no man may come in. %%% Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese: buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu. 23ISA024.011 There is a crying for wine in the streets; all joy is darkened, the mirth of the land is gone. %%% Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge; essanyu lyonna lizikizibwa, ekinyumu eky'ensi kigenze. 23ISA024.012 In the city is left desolation, and the gate is smitten with destruction. %%% Mu kibuga musigadde okuzika, ne wankaaki akubiddwa n'okuzikirira. 23ISA024.013 When thus it shall be in the midst of the land among the people, there shall be as the shaking of an olive tree, and as the gleaning grapes when the vintage is done. %%% Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde. 23ISA024.014 They shall lift up their voice, they shall sing for the majesty of the LORD, they shall cry aloud from the sea. %%% Bano baliyimusa eddoboozi lyabwe, balyogerera waggulu, olw'obukulu bwa Mukama baleekaana nga bayima ku nnyanja. 23ISA024.015 Wherefore glorify ye the LORD in the fires, even the name of the LORD God of Israel in the isles of the sea. %%% Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja. 23ISA024.016 From the uttermost part of the earth have we heard songs, even glory to the righteous. But I said, My leanness, my leanness, woe unto me! the treacherous dealers have dealt treacherously; yea, the treacherous dealers have dealt very treacherously. %%% Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi, ekitiibwa eri abatuukirivu. Naye ne njogera nti Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo. 23ISA024.017 Fear, and the pit, and the snare, are upon thee, O inhabitant of the earth. %%% Entiisa n'obunnya n'omutego biri ku ggwe, ggwe atuula mu nsi. 23ISA024.018 And it shall come to pass, that he who fleeth from the noise of the fear shall fall into the pit; and he that cometh up out of the midst of the pit shall be taken in the snare: for the windows from on high are open, and the foundations of the earth do shake. %%% Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo alinnya okuva mu bunnya wakati omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n'emisingi gy'ensi ginyeenya. 23ISA024.019 The earth is utterly broken down, the earth is clean dissolved, the earth is moved exceedingly. %%% Ensi emenyekedde ddala, ensi esaanuukidde ddala, ensi ejjulukuse nnyo. 23ISA024.020 The earth shall reel to and fro like a drunkard, and shall be removed like a cottage; and the transgression thereof shall be heavy upon it; and it shall fall, and not rise again. %%% Ensi eritagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira; n'okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n'etegolokoka nate. 23ISA024.021 And it shall come to pass in that day, that the LORD shall punish the host of the high ones that are on high, and the kings of the earth upon the earth. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alibonereza eggye ery'abagulumivu waggulu, ne bakabaka ab'ensi ku nsi. 23ISA024.022 And they shall be gathered together, as prisoners are gathered in the pit, and shall be shut up in the prison, and after many days shall they be visited. %%% Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era ennaku nnyingi aga ziyiseewo balijjirwa. 23ISA024.023 Then the moon shall be confounded, and the sun ashamed, when the LORD of hosts shall reign in mount Zion, and in Jerusalem, and before his ancients gloriously. %%% Kale omwezi gulikwatibwa ensonyi, n'enjuba eriswala; kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa. 23ISA025.001 O Lord, thou art my God; I will exalt thee, I will praise thy name; for thou hast done wonderful things; thy counsels of old are faithfulness and truth. %%% Ai Mukama, ggwe Katonda wange; naakugulumizanga, naatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima. 23ISA025.002 For thou hast made of a city an heap; of a defenced city a ruin: a palace of strangers to be no city; it shall never be built. %%% Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery'abagenyi olifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna. 23ISA025.003 Therefore shall the strong people glorify thee, the city of the terrible nations shall fear thee. %%% Abantu ab'amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa, ekibuga eky'amawanga ag'entiisa kirikutya. 23ISA025.004 For thou hast been a strength to the poor, a strength to the needy in his distress, a refuge from the storm, a shadow from the heat, when the blast of the terrible ones is as a storm against the wall. %%% Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina bintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kubanga kibuyaga akunta ku kisenge. 23ISA025.005 Thou shalt bring down the noise of strangers, as the heat in a dry place; even the heat with the shadow of a cloud: the branch of the terrible ones shall be brought low. %%% Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi; ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire, oluyimba olw'ab'entiisa lulikkakkanyizibwa. 23ISA025.006 And in this mountain shall the LORD of hosts make unto all people a feast of fat things, a feast of wines on the lees, of fat things full of marrow, of wines on the lees well refined. %%% Era ku lusozi luno Mukama ow'eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey'ebya ssava, embaga ey'omwenge omuka, ey'ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey'omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi. 23ISA025.007 And he will destroy in this mountain the face of the covering cast over all people, and the vail that is spread over all nations. %%% Era alimirira ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna 23ISA025.008 He will swallow up death in victory; and the Lord GOD will wipe away tears from off all faces; and the rebuke of his people shall he take away from off all the earth: for the LORD hath spoken it. %%% Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abaatu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde. 23ISA025.009 And it shall be said in that day, Lo, this is our God; we have waited for him, and he will save us: this is the LORD; we have waited for him, we will be glad and rejoice in his salvation. %%% Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijaguliza obulokozi bwe. 23ISA025.010 For in this mountain shall the hand of the LORD rest, and Moab shall be trodden down under him, even as straw is trodden down for the dunghill. %%% Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo. 23ISA025.011 And he shall spread forth his hands in the midst of them, as he that swimmeth spreadeth forth his hands to swim: and he shall bring down their pride together with the spoils of their hands. %%% Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga: era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze. 23ISA025.012 And the fortress of the high fort of thy walls shall he bring down, lay low, and bring to the ground, even to the dust. %%% N'ekigo eky'olukomera oluwanvu olwa bbugwe wo akikkakkanyizza, akissizza wansi, n'akituusa ku ttaka okutuuka ne mu nfuufu. 23ISA026.001 In that day shall this song be sung in the land of Judah; We have a strong city; salvation will God appoint for walls and bulwarks. %%% Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti Tulina ekibuga eky'amaanyi; obulokozi bw'alissaawo okuba bbugwe n'enkomera. 23ISA026.002 Open ye the gates, that the righteous nation which keepeth the truth may enter in. %%% Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire. 23ISA026.003 Thou wilt keep him in perfect peace, whose mind is stayed on thee: because he trusteth in thee. %%% Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe. 23ISA026.004 Trust ye in the LORD for ever: for in the LORD JEHOVAH is everlasting strength: %%% Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga mu Mukama Yakuwa mwe muli olwazi alutaliggwaawo. 23ISA026.005 For he bringeth down them that dwell on high; the lofty city, he layeth it low; he layeth it low, even to the ground; he bringeth it even to the dust. %%% Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu, ekibuga ekigulumivu: akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu. 23ISA026.006 The foot shall tread it down, even the feet of the poor, and the steps of the needy. %%% Ekigere kirikirinnyirira; ebigere by'omwavu, n'ebisinde by'oyo atalina kintu. 23ISA026.007 The way of the just is uprightness: thou, most upright, dost weigh the path of the just. %%% Ekkubo ery'omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw'omutuukirivu. 23ISA026.008 Yea, in the way of thy judgments, O LORD, have we waited for thee; the desire of our soul is to thy name, and to the remembrance of thee. %%% Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ai Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe. 23ISA026.009 With my soul have I desired thee in the night; yea, with my spirit within me will I seek thee early: for when thy judgments are in the earth, the inhabitants of the world will learn righteousness. %%% Nakwoyanga n'obulamu bwange ekiro; weewaawo, nakeeranga mu makya okukunoonya n'omwoyo gwange munda yange: kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, abatuula ku ttaka lwe bayiga obutuukirivu. 23ISA026.010 Let favour be shewed to the wicked, yet will he not learn righteousness: in the land of uprightness will he deal unjustly, and will not behold the majesty of the LORD. %%% Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama. 23ISA026.011 LORD, when thy hand is lifted up, they will not see: but they shall see, and be ashamed for their envy at the people; yea, the fire of thine enemies shall devour them. %%% Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebalaba: naye baliraba obunyiikivu bwo olw'abantu ne bakwatibwa ensonyi; weewaawo, omuliro gulyokya abalabe bo. 23ISA026.012 LORD, thou wilt ordain peace for us: for thou also hast wrought all our works in us. %%% Mukama, oliragira emirembe gye tuli: kubanga n'okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna. 23ISA026.013 O LORD our God, other lords beside thee have had dominion over us: but by thee only will we make mention of thy name. %%% Ai Mukama Katonda waffe, abaami abalala awali ggwe baatufuganga; naye ggwe tunaayatulanga erinnya lyo wekka. 23ISA026.014 They are dead, they shall not live; they are deceased, they shall not rise: therefore hast thou visited and destroyed them, and made all their memory to perish. %%% Bafudde, tebaliba balamu; bazikiridde, tebalizuukira: kyewava obajjira n'obasangulawo n'obuza okujjukirwa kwabwe kwonna. 23ISA026.015 Thou hast increased the nation, O LORD, thou hast increased the nation: thou art glorified: thou hadst removed it far unto all the ends of the earth. %%% Wayaza eggwanga, ai Mukama, wayaza eggwanga; ogulumizibwa: ogaziyizza ensalo zonna ez'ensi. 23ISA026.016 LORD, in trouble have they visited thee, they poured out a prayer when thy chastening was upon them. %%% Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo. 23ISA026.017 Like as a woman with child, that draweth near the time of her delivery, is in pain, and crieth out in her pangs; so have we been in thy sight, O LORD. %%% Ng'omukazi ali olubuto, ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ai Mukama. 23ISA026.018 We have been with child, we have been in pain, we have as it were brought forth wind; we have not wrought any deliverance in the earth; neither have the inhabitants of the world fallen. %%% Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n'abatuula mu nsi tebagudde. 23ISA026.019 Thy dead men shall live, together with my dead body shall they arise. Awake and sing, ye that dwell in dust: for thy dew is as the dew of herbs, and the earth shall cast out the dead. %%% Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku middo, n'ettaka liriwandula abafu. 23ISA026.020 Come, my people, enter thou into thy chambers, and shut thy doors about thee: hide thyself as it were for a little moment, until the indignation be overpast. %%% Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okunyiiga lwe kuliggwaawo. 23ISA026.021 For, behold, the LORD cometh out of his place to punish the inhabitants of the earth for their iniquity: the earth also shall disclose her blood, and shall no more cover her slain. %%% Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe: n'ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo; so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa. 23ISA027.001 In that day the LORD with his sore and great and strong sword shall punish leviathan the piercing serpent, even leviathan that crooked serpent; and he shall slay the dragon that is in the sea. %%% Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n'ekitala kye eky'obwogi ekinene eky'amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja. 23ISA027.002 In that day sing ye unto her, A vineyard of red wine. %%% Ku lunaku luli Olusuku olw'emizabbibu olw'omwenge muliruyimbira. 23ISA027.003 I the LORD do keep it; I will water it every moment: lest any hurt it, I will keep it night and day. %%% Nze Mukama ndukuuna; naalufukiriranga amazzi buli kaseera: ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, naalukuumanga emisana n'ekiro. 23ISA027.004 Fury is not in me: who would set the briers and thorns against me in battle? I would go through them, I would burn them together. %%% Ekiruyi tekiri mu nze: singa katazamiti n'amaggwa gannumbye mu lutalo! nandigatabadde, nandigookedde wamu. 23ISA027.005 Or let him take hold of my strength, that he may make peace with me; and he shall make peace with me. %%% Oba akwate ku maanyi gange, atabagane nange; weewaawo, atabagane nange. 23ISA027.006 He shall cause them that come of Jacob to take root: Israel shall blossom and bud, and fill the face of the world with fruit. %%% Mu biro ebiribaawo Yakobo alisimba emmizi; Isiraeri alyanya alimulisa: era balijjuza ensi yonna ebibala. 23ISA027.007 Hath he smitten him, as he smote those that smote him? or is he slain according to the slaughter of them that are slain by him? %%% Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba? oba attiddwa ng'abo bwe battibwa be yatta? 23ISA027.008 In measure, when it shooteth forth, thou wilt debate with it: he stayeth his rough wind in the day of the east wind. %%% Bw'omusindika okugenda owakana naye mu kigero; amujjuludde n'okuwuuma kwe okw'amaanyi ku lunaku olw'embuyaga eziva ebuvanjuba. 23ISA027.009 By this therefore shall the iniquity of Jacob be purged; and this is all the fruit to take away his sin; when he maketh all the stones of the altar as chalkstones that are beaten in sunder, the groves and images shall not stand up. %%% Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n'ekyo, era ekyo kye kibala kyonna eky'okuggyako ekibi kye; bw'afuula amayinja gonna ag'ekyoto ng'ebisibosibo ebisekulwasekulwa, Baasera n'ebifaananyi by'enjuba n'okuyimuka ne bitayimuka nate. 23ISA027.010 Yet the defenced city shall be desolate, and the habitation forsaken, and left like a wilderness: there shall the calf feed, and there shall he lie down, and consume the branches thereof. %%% Kubanga ekibuga ekyabangako enkomera kifulukwa, matongo agalekeddwawo, ng'eddungu: awo ennyana w'eririira, era awo w'erigalamira n'erya amatabi gaamu. 23ISA027.011 When the boughs thereof are withered, they shall be broken off: the women come, and set them on fire: for it is a people of no understanding: therefore he that made them will not have mercy on them, and he that formed them will shew them no favour. %%% Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa; abakazi balijja ne bagookya: kubanga be bantu abatalina magezi; eyabakola kyaliva alema okubasaasira, era eyababumba talibalaga kisa. 23ISA027.012 And it shall come to pass in that day, that the LORD shall beat off from the channel of the river unto the stream of Egypt, and ye shall be gathered one by one, O ye children of Israel. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikuŋŋunta okuva ku ntaba ez'Omugga okutuusa ku mugga ogw'e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri. 23ISA027.013 And it shall come to pass in that day, that the great trumpet shall be blown, and they shall come which were ready to perish in the land of Assyria, and the outcasts in the land of Egypt, and shall worship the LORD in the holy mount at Jerusalem. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli ekkondeere eddene lirifuuyibwa; era balijja abo abaali beeteeseteese okuzikirira mu nsi y'e Bwasuli n'abo abaali bagobeddwa mu nsi y'e Misiri; era balisinziza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi. 23ISA028.001 Woe to the crown of pride, to the drunkards of Ephraim, whose glorious beauty is a fading flower, which are on the head of the fat valleys of them that are overcome with wine! %%% Zisanze engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu, n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggebwa omwenge! 23ISA028.002 Behold, the Lord hath a mighty and strong one, which as a tempest of hail and a destroying storm, as a flood of mighty waters overflowing, shall cast down to the earth with the hand. %%% Laba, Mukama alina ow'amaanyi era omuzira; nga kibuyaga alimu omuzira, embuyaga ezizikiriza, ng'amazzi amangi ag'amaanyi agayanjaala ennyo, bw'atyo bw'alisuula wansi ku ttaka n'omukono. 23ISA028.003 The crown of pride, the drunkards of Ephraim, shall be trodden under feet: %%% Engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu eririnnyirirwa n'ebigere: 23ISA028.004 And the glorious beauty, which is on the head of the fat valley, shall be a fading flower, and as the hasty fruit before the summer; which when he that looketh upon it seeth, while it is yet in his hand he eateth it up. %%% n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ettiini erisooka okwengera ekyeya nga tekinnatuuka; oyo alitunuulira bw'aliraba nga likyali mu mukono gwe alirira ddala. 23ISA028.005 In that day shall the LORD of hosts be for a crown of glory, and for a diadem of beauty, unto the residue of his people, %%% Ku lunaku luli Mukama ow'eggye aliba ngule ya kitiibwa, era aliba nkuufiira ya buyonjo, eri abantu be abalifikkawo: 23ISA028.006 And for a spirit of judgment to him that sitteth in judgment, and for strength to them that turn the battle to the gate. %%% era aliba mwoyo gwa kusala misango eri oyo atuula ng'asala emisango, era aliba maanyi eri abo abazzaayo olutalo mu mulyango. 23ISA028.007 But they also have erred through wine, and through strong drink are out of the way; the priest and the prophet have erred through strong drink, they are swallowed up of wine, they are out of the way through strong drink; they err in vision, they stumble in judgment. %%% Naye era nabo bakyamye olw'omwenge, era ekitamiiza kibawabizza; kabona ne nnabbi bakyamye olw'omwenge, omwenge gubasaanyizzaawo, bawabye olw'ekitamiiza; bakyama mu kwolesebwa, beesittala mu kusala emisango. 23ISA028.008 For all tables are full of vomit and filthiness, so that there is no place clean. %%% Kubanga emmeeza zonna zijjudde ebisesemye n'empitambi, obutabaawo kifo kirongoofu. 23ISA028.009 Whom shall he teach knowledge? and whom shall he make to understand doctrine? them that are weaned from the milk, and drawn from the breasts. %%% Ani gw'aliyigiriza okumanya? era ani gw'alitegeeza ebibuulirwa? abo abaleseeyo okuyonka era abavudde ku mabeere? 23ISA028.010 For precept must be upon precept, precept upon precept; line upon line, line upon line; here a little, and there a little: %%% Kubanga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunayiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono. 23ISA028.011 For with stammering lips and another tongue will he speak to this people. %%% Nedda, naye alyogera n'abantu bano n'emimwa emigenyi era n'olulimi olulala: 23ISA028.012 To whom he said, This is the rest wherewith ye may cause the weary to rest; and this is the refreshing: yet they would not hear. %%% be yagamba nti Kuno kwe kuwummula, mumuwe okuwummula oyo akooye; era kuno kwe kuweera: naye ne bataganya kuwulira. 23ISA028.013 But the word of the LORD was unto them precept upon precept, precept upon precept; line upon line, line upon line; here a little, and there a little; that they might go, and fall backward, and be broken, and snared, and taken. %%% Ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunnyiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono; bagende bagwe bugazi bamenyeke bateegebwe bakwatibwe. 23ISA028.014 Wherefore hear the word of the LORD, ye scornful men, that rule this people which is in Jerusalem. %%% Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi nti 23ISA028.015 Because ye have said, We have made a covenant with death, and with hell are we at agreement; when the overflowing scourge shall pass through, it shall not come unto us: for we have made lies our refuge, and under falsehood have we hid ourselves: %%% Kubanga mwogedde nti Tulagaanye endagaano n'okufa, era tutabaganye n'amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby'obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w'obukuusa: 23ISA028.016 Therefore thus saith the Lord GOD, Behold, I lay in Zion for a foundation a stone, a tried stone, a precious corner stone, a sure foundation: he that believeth shall not make haste. %%% Mukama Katonda kyava ayogera nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja okuba omusingi, ejjinja eryakemebwa, ejjinja ery'oku nsonda ery'omuwendo omungi erinywezebwa ennyo wansi: akkiriza talyanguyiriza. 23ISA028.017 Judgment also will I lay to the line, and righteousness to the plummet: and the hail shall sweep away the refuge of lies, and the waters shall overflow the hiding place. %%% Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera, n'obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza: n'omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky'obulimba, n'amazzi galyanjaala ku kifo eky'okwekwekamu. 23ISA028.018 And your covenant with death shall be disannulled, and your agreement with hell shall not stand; when the overflowing scourge shall pass through, then ye shall be trodden down by it. %%% N'endagaano gye mwalagaana n'okufa erijjulukuka, so n'okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n'amagombe tekulinywera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kibalinnyirira wansi. 23ISA028.019 From the time that it goeth forth it shall take you: for morning by morning shall it pass over, by day and by night: and it shall be a vexation only to understand the report. %%% Buli lwe kinaayitangamu; kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n'ekiro: era okutegeera ebibuulirwa kuliba ntiisa nsa. 23ISA028.020 For the bed is shorter than that a man can stretch himself on it: and the covering narrower than that he can wrap himself in it. %%% Kubanga ekitanda kimpi omuntu n'okuyinza n’atayinza kukyegololerako; n'eky'okwebikkako kyako kifunda n'okuyinza n'atayinza kukyebikka. 23ISA028.021 For the LORD shall rise up as in mount Perazim, he shall be wroth as in the valley of Gibeon, that he may do his work, his strange work; and bring to pass his act, his strange act. %%% Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu, alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu eky'e Gibyoni; akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw'ekitalo, era atuukirize ekikolwa kye, ekikolwa kye eky'ekitalo. 23ISA028.022 Now therefore be ye not mockers, lest your bands be made strong: for I have heard from the Lord GOD of hosts a consumption, even determined upon the whole earth. %%% Kale nno temuba banyoomi, enjegere zammwe zireme okunywezebwa: kubanga okukomekkereza era okwateesebwa kwe mpulidde okuva eri Mukama, Mukama ow'eggye, ku nsi yonna. 23ISA028.023 Give ye ear, and hear my voice; hearken, and hear my speech. %%% Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange; mutegereze muwulire ebigambo byange. 23ISA028.024 Doth the plowman plow all day to sow? doth he open and break the clods of his ground? %%% Omulimi alima lutata okusiga? akabala lutata n'akuba amavuunike ag'ettaka lye? 23ISA028.025 When he hath made plain the face thereof, doth he not cast abroad the fitches, and scatter the cummin, and cast in the principal wheat and the appointed barley and the rie in their place? %%% Bw'amala okulittaanya lyonna, tayiwa ntinnamuti, n'asaasaanya kumino, n'asiga eŋŋaano ennyiriri ne sayiri mu kifo ekiragiddwa n'obulo ku lubibiro lwako? 23ISA028.026 For his God doth instruct him to discretion, and doth teach him. %%% Kubanga Katonda we amutegeeza bulungi, amuyigiriza. 23ISA028.027 For the fitches are not threshed with a threshing instrument, neither is a cart wheel turned about upon the cummin; but the fitches are beaten out with a staff, and the cummin with a rod. %%% Kubanga entinnamuti teziwuulibwa na kintu kya bwogi, so ne kumino tebaginyooleranyoolerako namuziga w'eggaali; naye entinnamuti ziwuulibwa na muggo, ne kumino na luga. 23ISA028.028 Bread corn is bruised; because he will not ever be threshing it, nor break it with the wheel of his cart, nor bruise it with his horsemen. %%% Eŋŋaano ey'omugaati bagisa busa; kubanga talimala nnaku zonna ng'agiwuula: era namuziga w'eggaali lye n'embalaasi ze ne bwe bigisaasaanya, era tagisa. 23ISA028.029 This also cometh forth from the LORD of hosts, which is wonderful in counsel, and excellent in working. %%% Era n'ekyo kivudde eri Mukama ow'eggye, ow'ekitalo okuteesa ebigambo, asinga bonna amagezi. 23ISA029.001 Woe to Ariel, to Ariel, the city where David dwelt! add ye year to year; let them kill sacrifices. %%% Owange, Alyeri, Alyeri, ekibuga Dawudi kye yasiisirako mugatte omwaka ku mwaka; embaga zituukire mu ntuuko zaazo: 23ISA029.002 Yet I will distress Ariel, and there shall be heaviness and sorrow: and it shall be unto me as Ariel. %%% ne ndyoka nakuwaza Alyeri, era walibaawo okukaaba n'okuwuubaala: era aliba gye ndi nga Alyeri. 23ISA029.003 And I will camp against thee round about, and will lay siege against thee with a mount, and I will raise forts against thee. %%% Era ndikusiisirako enjuyi zonna, era ndikuzingiza n'ekigo, era ndikuzimbako enkomera ez'okuzimbirira. 23ISA029.004 And thou shalt be brought down, and shalt speak out of the ground, and thy speech shall be low out of the dust, and thy voice shall be, as of one that hath a familiar spirit, out of the ground, and thy speech shall whisper out of the dust. %%% Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka, n'ebigambo byo biriba wansi nga biyima mu nfuufu; n'eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu, nga liyima mu ttaka, n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biyima mu nfuufu. 23ISA029.005 Moreover the multitude of thy strangers shall be like small dust, and the multitude of the terrible ones shall be as chaff that passeth away: yea, it shall be at an instant suddenly. %%% Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge, n'ekibiina eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufu efuumuuka: weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago. 23ISA029.006 Thou shalt be visited of the LORD of hosts with thunder, and with earthquake, and great noise, with storm and tempest, and the flame of devouring fire. %%% Alijjirwa Mukama ow'eggye n'okubwatuka n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene, n'omuzimu ne kibuyaga n'olulimi olw'omuliro ogwokya. 23ISA029.007 And the multitude of all the nations that fight against Ariel, even all that fight against her and her munition, and that distress her, shall be as a dream of a night vision. %%% N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri, gonna agalwama naye n'ekigo kye, n'abamuteganya kiriba ng'ekirooto, okwolesebwa okw'ekiro. 23ISA029.008 It shall even be as when an hungry man dreameth, and, behold, he eateth; but he awaketh, and his soul is empty: or as when a thirsty man dreameth, and, behold, he drinketh; but he awaketh, and, behold, he is faint, and his soul hath appetite: so shall the multitude of all the nations be, that fight against mount Zion. %%% Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota, era, laba, ng'alya naye n'azuukuka, n'obulamu bwe nga tebukkuse: oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, era, laba, ng'anywa; naye n'azuukuka, era, laba, ng'azirika n'obulamu bwe nga bwoya: bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'amawanga gonna agalwana n'olusozi Sayuuni. 23ISA029.009 Stay yourselves, and wonder; cry ye out, and cry: they are drunken, but not with wine; they stagger, but not with strong drink. %%% Mulindirire mwewuunye; mwesiimire ddala muzibe amaaso: batamidde, naye si na mwenge; batagatta, naye si na kitamiiza. 23ISA029.010 For the LORD hath poured out upon you the spirit of deep sleep, and hath closed your eyes: the prophets and your rulers, the seers hath he covered. %%% Kubanga Mukama afuse ku mmwe omwoyo ogw'otulo otungi, era azibye amaaso gammwe, bannabbi; n'emitwe gyammwe, abalaguzi, agibisseeko. 23ISA029.011 And the vision of all is become unto you as the words of a book that is sealed, which men deliver to one that is learned, saying, Read this, I pray thee: and he saith, I cannot; for it is sealed: %%% N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti Soma kino, nkwegayiridde: n’ayogera nti Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero: 23ISA029.012 And the book is delivered to him that is not learned, saying, Read this, I pray thee: and he saith, I am not learned. %%% ne bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti Soma kino, nkwegayiridde: n'ayogera nti Siyigirizibwanga. 23ISA029.013 Wherefore the Lord said, Forasmuch as this people draw near me with their mouth, and with their lips do honour me, but have removed their heart far from me, and their fear toward me is taught by the precept of men: %%% Mukama n'ayogera nti Kubanga abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya mu kamwa kaabwe era kya ku mimwa gyabwe, naye omutima gwabwe baguntadde wala, n'okuntya kwame kiragiro kya bantu kye bayigirizibwa: 23ISA029.014 Therefore, behold, I will proceed to do a marvellous work among this people, even a marvellous work and a wonder: for the wisdom of their wise men shall perish, and the understanding of their prudent men shall be hid. %%% kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu ogw'ekitalo mu bantu bano, omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero: n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira, n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa. 23ISA029.015 Woe unto them that seek deep to hide their counsel from the LORD, and their works are in the dark, and they say, Who seeth us? and who knoweth us? %%% Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kabwe, n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza, ne boogera nti Ani atulaba? era ani atumanyi? 23ISA029.016 Surely your turning of things upside down shall be esteemed as the potter's clay: for shall the work say of him that made it, He made me not? or shall the thing framed say of him that framed it, He had no understanding? %%% Muvuunikira ddala ebintu. Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti Teyankola; oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti Talina magezi? 23ISA029.017 Is it not yet a very little while, and Lebanon shall be turned into a fruitful field, and the fruitful field shall be esteemed as a forest? %%% Tekyasigaddeyo kiseera kitono nnyo Lebanooni alifuusibwa ennimiro eŋŋimu, n'ennimiro eŋŋimu baligiyita kibira? 23ISA029.018 And in that day shall the deaf hear the words of the book, and the eyes of the blind shall see out of obscurity, and out of darkness. %%% Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira ebigambo by'omu kitabo, n'amaaso g'omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza. 23ISA029.019 The meek also shall increase their joy in the LORD, and the poor among men shall rejoice in the Holy One of Israel. %%% Era abawombeefu balyeyongera okusanyukira Mukama, b'abaavu mu bantu balisanyukira Omutukuvu owa Isiraeri. 23ISA029.020 For the terrible one is brought to nought, and the scorner is consumed, and all that watch for iniquity are cut off: %%% Kubanga ow'entiisa bamudibizza, n'omunyoomi akoma, n'abo bonna abalabirira obutali butuukirivu bazikiridde: 23ISA029.021 That make a man an offender for a word, and lay a snare for him that reproveth in the gate, and turn aside the just for a thing of nought. %%% abafuula omuntu omusobya mu musango, ne bamutegera omutego anenya mu mulyango, ne bakyamya omutuukirivu n'ekitaliimu. 23ISA029.022 Therefore thus saith the LORD, who redeemed Abraham, concerning the house of Jacob, Jacob shall not now be ashamed, neither shall his face now wax pale. %%% Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera mu nnyumba ya Yakobo talikwatibwa nsonyi kaakano, so n’amaaso ge tegalikyuka bbala lyago. 23ISA029.023 But when he seeth his children, the work of mine hands, in the midst of him, they shall sanctify my name, and sanctify the Holy One of Jacob, and shall fear the God of Israel. %%% Naye bw’aliraba abaana be, omulimu ogw’engalo zange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange; weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo, era balitekemukira Katonda wa Isiraeri. 23ISA029.024 They also that erred in spirit shall come to understanding, and they that murmured shall learn doctrine. %%% Era n'abo abakyama mu mwoyo, balifuuka abategeevu, n'abo abeemulugunya baliyiga okuyigirizibwa. 23ISA030.001 Woe to the rebellious children, saith the LORD, that take counsel, but not of me; and that cover with a covering, but not of my spirit, that they may add sin to sin: %%% Zibasanze abaana abajeemu bw'ayogera Mukama, abateesa ebigambo, naye si nange; era ababikka n'ekibikka, naye si kya mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ki kibi: 23ISA030.002 That walk to go down into Egypt, and have not asked at my mouth; to strengthen themselves in the strength of Pharaoh, and to trust in the shadow of Egypt! %%% abatambula okuserengeta okugenda e Misiri, so nga tebabuuzizza mu kamwa kange; okwenyweza mu maanyi ga Falaawo, n'okwesiga ekisiikirize eky'e Misiri! 23ISA030.003 Therefore shall the strength of Pharaoh be your shame, and the trust in the shadow of Egypt your confusion. %%% Amaanyi ga Falaawo kyegaliva gabeera ensonyi zammwe, n'okwesiga ekisiikirize eky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe. 23ISA030.004 For his princes were at Zoan, and his ambassadors came to Hanes. %%% Kubanga abakulu be bali Zowani, n'ababaka be batuuse e Kanesi. 23ISA030.005 They were all ashamed of a people that could not profit them, nor be an help nor profit, but a shame, and also a reproach. %%% Bonna balikwatirwa ensonyi abantu abatayinza kubagasa abatayamba newakubadde okugasa wabula ensonyi era ekivume. 23ISA030.006 The burden of the beasts of the south: into the land of trouble and anguish, from whence come the young and old lion, the viper and fiery flying serpent, they will carry their riches upon the shoulders of young asses, and their treasures upon the bunches of camels, to a people that shall not profit them. %%% Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiika obwa ddyo. Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa, omuva empologoma enkazi n'ensajja, embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka nga batikka obugagga bwabwe ku mabega g'endogoyi ento, n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa. 23ISA030.007 For the Egyptians shall help in vain, and to no purpose: therefore have I cried concerning this, Their strength is to sit still. %%% Kubanga Misiri abeerera bwereere era busa: kyenvudde mmuyita Lakabu atuula obutuuzi. 23ISA030.008 Now go, write it before them in a table, and note it in a book, that it may be for the time to come for ever and ever: %%% Kale genda okiwandiikire ku kipande mu maaso gaabwe, okiteeke ne mu kitabo, kibeere kya biro ebigenda okujja emirembe n'emirembe. 23ISA030.009 That this is a rebellious people, lying children, children that will not hear the law of the LORD: %%% Kubanga be bantu abajeemu, abaana ab'obulimba, abaana abataganya kuwulira mateeka ga Mukama: 23ISA030.010 Which say to the seers, See not; and to the prophets, Prophesy not unto us right things, speak unto us smooth things, prophesy deceits: %%% abagamba abalabi nti Temulabanga; n'abalaguzi nti Temutulaguliranga bya mazima, mutubuulire ebiweweevu mulagule eby'obulimba: 23ISA030.011 Get you out of the way, turn aside out of the path, cause the Holy One of Israel to cease from before us. %%% muve mu luguudo, nukyame okuva mu kkubo, Omutukuvu owa Isiraeri mumumalewo mu naaso gaffe. 23ISA030.012 Wherefore thus saith the Holy One of Israel, Because ye despise this word, and trust in oppression and perverseness, and stay thereon: %%% Kyava ayogera Omutukuvu owa Isiraeri nti Kubanga munyoomye ekigambo kino ne mwesiga okujooga n'obubambaavu ne mwesigama okwo; 23ISA030.013 Therefore this iniquity shall be to you as a breach ready to fall, swelling out in a high wall, whose breaking cometh suddenly at an instant. %%% obutali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu, okumenyeka kwakyo kujja mangu obutamanyirira. 23ISA030.014 And he shall break it as the breaking of the potters' vessel that is broken in pieces; he shall not spare: so that there shall not be found in the bursting of it a sherd to take fire from the hearth, or to take water withal out of the pit. %%% Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kimenyeka, ng'akimenyamenya awatali kusaasira; n'okulabika ne wataabika lugyo mu bitundu byakyo olw'okusena omuliro mu kyoto, oba olw'okusena amazzi mu kidiba. 23ISA030.015 For thus saith the Lord GOD, the Holy One of Israel; In returning and rest shall ye be saved; in quietness and in confidence shall be your strength: and ye would not. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala. 23ISA030.016 But ye said, No; for we will flee upon horses; therefore shall ye flee: and, We will ride upon the swift; therefore shall they that pursue you be swift. %%% Naye ne mugamba nti Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi; kyemuliva mudduka: era nti Tulyebagala ku z'embiro; abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro. 23ISA030.017 One thousand shall flee at the rebuke of one; at the rebuke of five shall ye flee: till ye be left as a beacon upon the top of a mountain, and as an ensign on an hill. %%% Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu; olw'okuboggola kw'abataano mulidduka: okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, era ng'ebendera eri ku kasozi. 23ISA030.018 And therefore will the LORD wait, that he may be gracious unto you, and therefore will he be exalted, that he may have mercy upon you: for the LORD is a God of judgment: blessed are all they that wait for him. %%% Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire: kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira. 23ISA030.019 For the people shall dwell in Zion at Jerusalem: thou shalt weep no more: he will be very gracious unto thee at the voice of thy cry; when he shall hear it, he will answer thee. %%% Kubanga abantu balituula ku Sayuuni e Yerusaalemi: tolikaaba nate maziga; talirema kukukwatirwa kisa olw'eddoboozi ery'okukaaba kwo; bw'aliwulira alikwanukula. 23ISA030.020 And though the Lord give you the bread of adversity, and the water of affliction, yet shall not thy teachers be removed into a corner any more, but thine eyes shall see thy teachers: %%% Era Mukama newakubadde ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo: 23ISA030.021 And thine ears shall hear a word behind thee, saying, This is the way, walk ye in it, when ye turn to the right hand, and when ye turn to the left. %%% n'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono. 23ISA030.022 Ye shall defile also the covering of thy graven images of silver, and the ornament of thy molten images of gold: thou shalt cast them away as a menstruous cloth; thou shalt say unto it, Get thee hence. %%% Era mulyonoona ebibikka ku bifaananyi byo ebyole ebya ffeeza, n'ebisaanikira ku bifaananyi byo ebifumbe ebya zaabu: olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olikigamba nti Vaawo. 23ISA030.023 Then shall he give the rain of thy seed, that thou shalt sow the ground withal; and bread of the increase of the earth, and it shall be fat and plenteous: in that day shall thy cattle feed in large pastures. %%% Era alitonnyesa enkuba ey'ensigo zo, z'olisiga mu ttaka; era aligaba emmere ey'ekyengera eky'ettaka, era eriba ŋŋimu era nnyingi: ku lunaku luli ebisibo byo biririira mu malundiro amagazi. 23ISA030.024 The oxen likewise and the young asses that ear the ground shall eat clean provender, which hath been winnowed with the shovel and with the fan. %%% Era ente n'endogoyi ento ezirima ettaka zinaalyanga ebyokulya ebirimu omunnyo, ebyawewebwa n'olugali n'ekiwujjo. 23ISA030.025 And there shall be upon every high mountain, and upon every high hill, rivers and streams of waters in the day of the great slaughter, when the towers fall. %%% Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba ensulo n'emigga gy'amazzi, ku lunaku olw'okutta abangi, ebigo bwe birigwa. 23ISA030.026 Moreover the light of the moon shall be as the light of the sun, and the light of the sun shall be sevenfold, as the light of seven days, in the day that the LORD bindeth up the breach of his people, and healeth the stroke of their wound. %%% Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky’abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe. 23ISA030.027 Behold, the name of the LORD cometh from far, burning with his anger, and the burden thereof is heavy: his lips are full of indignation, and his tongue as a devouring fire: %%% Laba, erinnya lya Mukama liva wala, nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu emimwa gye gijjudde okunyiiga, n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya: 23ISA030.028 And his breath, as an overflowing stream, shall reach to the midst of the neck, to sift the nations with the sieve of vanity: and there shall be a bridle in the jaws of the people, causing them to err. %%% n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala, ogutuuka ne mu bulago, okukuŋŋunta amawanga n'olugali olw'obutaliimu: n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga. 23ISA030.029 Ye shall have a song, as in the night when a holy solemnity is kept; and gladness of heart, as when one goeth with a pipe to come into the mountain of the LORD, to the mighty One of Israel. %%% Muliba n'oluyimba ng'ekiro bwe bakwata embaga entukuvu n'essanyu ery'omu mutima, ng'omuntu bw'agenda n'endere okujja ku lusozi lwa Mukama, eri Olwazi lwa Isiraeri. 23ISA030.030 And the LORD shall cause his glorious voice to be heard, and shall shew the lighting down of his arm, with the indignation of his anger, and with the flame of a devouring fire, with scattering, and tempest, and hailstones. %%% Era Mukama aliwuliza eddoboozi lye ery'ekitiibwa, era aliraga okukka kw'omukono gwe, n'okunyiiga kw'obusungu bwe, n'olulimi lw'omuliro ogwokya n'okubwatuka ne kibuyaga n'omuzira. 23ISA030.031 For through the voice of the LORD shall the Assyrian be beaten down, which smote with a rod. %%% Kubanga olw'eddoboozi lya Mukama Omwasuli alimenyekamenyeka, eyakubanga n'oluga. 23ISA030.032 And in every place where the grounded staff shall pass, which the LORD shall lay upon him, it shall be with tabrets and harps: and in battles of shaking will he fight with it. %%% Na buli lwe banaamukubanga n'omuggo ogwalagirwa, Mukama gw'alimuteekako, wanaabangawo ebitaasa n'ennanga: era alirwana nabo mu ntalo ez'okunyeenya. 23ISA030.033 For Tophet is ordained of old; yea, for the king it is prepared; he hath made it deep and large: the pile thereof is fire and much wood; the breath of the LORD, like a stream of brimstone, doth kindle it. %%% Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kinene: ekikoomi kyakyo muliro na nku nnyingi; omukka gwa Mukama, ng'omugga ogw'ekibiriiti, gukyasa. 23ISA031.001 Woe to them that go down to Egypt for help; and stay on horses, and trust in chariots, because they are many; and in horsemen, because they are very strong; but they look not unto the Holy One of Israel, neither seek the LORD! %%% Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri so tebanoonya Mukama! 23ISA031.002 Yet he also is wise, and will bring evil, and will not call back his words: but will arise against the house of the evildoers, and against the help of them that work iniquity. %%% Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye: naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku buyambi bw'abo abakola ebitali bya butuukirivu. 23ISA031.003 Now the Egyptians are men, and not God; and their horses flesh, and not spirit. When the LORD shall stretch out his hand, both he that helpeth shall fall, and he that is holpen shall fall down, and they all shall fail together. %%% Kale nno Abamisiri bantu buntu so si Katonda; n'embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo: era Mukama bw'aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala era n'oyo ayambwa aligwa, kale bonna baliggweerawo wamu. 23ISA031.004 For thus hath the LORD spoken unto me, Like as the lion and the young lion roaring on his prey, when a multitude of shepherds is called forth against him, he will not be afraid of their voice, nor abase himself for the noise of them: so shall the LORD of hosts come down to fight for mount Zion, and for the hill thereof. %%% Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋamba nti Ng'empologoma bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo n'empologoma ento, abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba, teritiisibwa na ddoboozi lyabwe, so teryetoowaza lwa kuyoogaana kwabwe: bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako. 23ISA031.005 As birds flying, so will the LORD of hosts defend Jerusalem; defending also he will deliver it; and passing over he will preserve it. %%% Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'anaakuumanga Yerusaalemi; anaakikuumanga n'akiwonya, aliyitako n'akirokola. 23ISA031.006 Turn ye unto him from whom the children of Israel have deeply revolted. %%% Mukyukire oyo gwe mwajeemerera ddala, mmwe abaana ba Isiraeri. 23ISA031.007 For in that day every man shall cast away his idols of silver, and his idols of gold, which your own hands have made unto you for a sin. %%% Kubanga ku lunaku luli balisuulira ddala buli muntu ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi. 23ISA031.008 Then shall the Assyrian fall with the sword, not of a mighty man; and the sword, not of a mean man, shall devour him: but he shall flee from the sword, and his young men shall be discomfited. %%% Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali kya bantu; n'ekitala ekitali kya bantu kirimulya: era alidduka ekitala, n'abavubuka be balifuuka musolo. 23ISA031.009 And he shall pass over to his strong hold for fear, and his princes shall be afraid of the ensign, saith the LORD, whose fire is in Zion, and his furnace in Jerusalem. %%% N'olwazi lwe lulivaawo olw'okwesisiwala, n'abakulu be balikeŋŋentererwa olw'ebendera, bw'ayogera Mukama, omuliro gwe guli ku Sayuuni n'ekikoomi kye mu Yerusaalemi. 23ISA032.001 Behold, a king shall reign in righteousness, and princes shall rule in judgment. %%% Laba, kabaka alifuga n'obutuukirivu, n'abakulu balifuga n'omusango. 23ISA032.002 And a man shall be as an hiding place from the wind, and a covert from the tempest; as rivers of water in a dry place, as the shadow of a great rock in a weary land. %%% Era omuntu aliba ng'ekifo eky'okwekwekamu eri empewo, n'ekiddukiro eri kibuyaga; ng'emigga gy'amazzi mu kifo ekikalu, ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu nsi ekooyesa. 23ISA032.003 And the eyes of them that see shall not be dim, and the ears of them that hear shall hearken. %%% N'amaaso g'abo abalaba tegalibaako kifu, n'amatu g'abo abawulira galiwuliriza. 23ISA032.004 The heart also of the rash shall understand knowledge, and the tongue of the stammerers shall be ready to speak plainly. %%% N'omutima gw'oyo eyeeyinula gulitegeera okumanya, n'olulimi lw'abanaanaagize lulyeteekateeka okwogera obulungi. 23ISA032.005 The vile person shall be no more called liberal, nor the churl said to be bountiful. %%% Omugwagwa nga tebakyamuyita mugabi, so n'omukodo nga tebamuyita wa kisa. 23ISA032.006 For the vile person will speak villany, and his heart will work iniquity, to practise hypocrisy, and to utter error against the LORD, to make empty the soul of the hungry, and he will cause the drink of the thirsty to fail. %%% Kubanga omugwagwa alyogera eby'obugwagwa, n'omutima gwe gulikola ebitali bya butuukirivu, okukola eby'okuvuma Katonda, n'okwogera ebikyamu ku Mukama, okulumya enjala obulamu bw'omuyala, n'okumalawo ow'ennyonta kye yandinywedde. 23ISA032.007 The instruments also of the churl are evil: he deviseth wicked devices to destroy the poor with lying words, even when the needy speaketh right. %%% Era n'ebintu eby'omukodo bibi: asala enkwe embi okuzikiriza omuwombeefu n'ebigambo eby'obulimba atalina kintu ne bw'ayogera eby'ensonga. 23ISA032.008 But the liberal deviseth liberal things; and by liberal things shall he stand. %%% Naye omugabi alowooza bya kugaba; era mu by'okugaba mw'alinywerera. 23ISA032.009 Rise up, ye women that are at ease; hear my voice, ye careless daughters; give ear unto my speech. %%% Mugolokoke, mmwe abakazi abalangajja, muwulire eddoboozi lyange; mmwe abawala abataliiko kye mulowooza, mutegere amatu ebigambo byange. 23ISA032.010 Many days and years shall ye be troubled, ye careless women: for the vintage shall fail, the gathering shall not come. %%% Mulinakuwalira ennaku ezirisussa omwaka, mmwe abakazi abataliiko kye mulowooza: kubanga ebikungulwa eby'emizabbibu birifa, okukungula tekulituuka. 23ISA032.011 Tremble, ye women that are at ease; be troubled, ye careless ones: strip you, and make you bare, and gird sackcloth upon your loins. %%% Mukankane, mmwe abakazi abalangajja; munakuwale, mmwe abataliiko kye mulowooza: mwambule mubeere bwereere, mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe. 23ISA032.012 They shall lament for the teats, for the pleasant fields, for the fruitful vine. %%% Balikuba mu kifuba olw'ennimiro ez'okusanyuka, olw'omuzabbibu omugimu. 23ISA032.013 Upon the land of my people shall come up thorns and briers; yea, upon all the houses of joy in the joyous city: %%% Ku nsi y'abantu bange kulimera amaggwa ne katazamiti; weewaawo, ku nnyumba zonna ez'essanyu mu kibuga eky'essanyu: 23ISA032.014 Because the palaces shall be forsaken; the multitude of the city shall be left; the forts and towers shall be for dens for ever, a joy of wild asses, a pasture of flocks; %%% kubanga olubiri lulirekebwawo; ekibuga eky'abantu abangi kiriba kifulukwa; olusozi n'ekigo ekirengererwako biriba mpuku ennaku zonna, ssanyu lya ntulege, ddundiro lya magana; 23ISA032.015 Until the spirit be poured upon us from on high, and the wilderness be a fruitful field, and the fruitful field be counted for a forest. %%% okutuusa omwoyo lwe gulitufukibwako okuva waggulu, eddungu ne lifuuka ennimiro eŋŋimu, ennimiro eŋŋimu ne bagiyita kibira. 23ISA032.016 Then judgment shall dwell in the wilderness, and righteousness remain in the fruitful field. %%% Kale omusango gulituula mu ddungu, n'obutuukirivu bulibeera mu nnimiro eŋŋimu. 23ISA032.017 And the work of righteousness shall be peace; and the effect of righteousness quietness and assurance for ever. %%% N'omulimu gw'obutuukirivu guliba mirembe; era obutuukirivu bulireeta okutereera n'okwesiganga ennaku zonna. 23ISA032.018 And my people shall dwell in a peaceable habitation, and in sure dwellings, and in quiet resting places; %%% N'abantu bange balituula mu kifo eky'emirembe ne mu nnyumba ez'enkalakkalira, ne mu biwummulo ebitereevu. 23ISA032.019 When it shall hail, coming down on the forest; and the city shall be low in a low place. %%% Naye omuzira gulitonnya, ekibira bwe kirigwa; n'ekibuga kirisuulirwa ddala wansi. 23ISA032.020 Blessed are ye that sow beside all waters, that send forth thither the feet of the ox and the ass. %%% Mulina omukisa mmwe abasiga ku mabbali g'amazzi gonna, abasindika ebigere by'ente n'endogoyi. 23ISA033.001 Woe to thee that spoilest, and thou wast not spoiled; and dealest treacherously, and they dealt not treacherously with thee! when thou shalt cease to spoil, thou shalt be spoiled; and when thou shalt make an end to deal treacherously, they shall deal treacherously with thee. %%% Zikusanze ggwe anyaga so tonyagibwanga; era alyazaamaanya, so tebakulyazaamaanyanga! Bw'olireka okunyaga, n'olyoka onyagibwa; era bw'olimalira ddala okulyazaamaanya, ne balyoka bakulyazaamaanya. 23ISA033.002 O LORD, be gracious unto us; we have waited for thee: be thou their arm every morning, our salvation also in the time of trouble. %%% Ai Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira: beera mukono gwabwe buli nkya, era obulokozi bwaffe mu biro eby'okulabiramu ennaku. 23ISA033.003 At the noise of the tumult the people fled; at the lifting up of thyself the nations were scattered. %%% Olw'eddoboozi ery'okuyoogaana amawanga gadduse: olw'okweyimusa ggwe amawanga gasaasaanye. 23ISA033.004 And your spoil shall be gathered like the gathering of the caterpiller: as the running to and fro of locusts shall he run upon them. %%% N'omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng'akawuka bwe kakuŋŋaanya: ng'enzige bwe zigwa bwe baligugwako bwe batyo. 23ISA033.005 The LORD is exalted; for he dwelleth on high: he hath filled Zion with judgment and righteousness. %%% Mukama agulumizibwa kubanga atuula waggulu: ajjuzizza Sayuuni omusango n'obutuukirivu. 23ISA033.006 And wisdom and knowledge shall be the stability of thy times, and strength of salvation: the fear of the LORD is his treasure. %%% Era walibaawo enkalakkalira mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya: okutya Mukama bwe bugagga bwe. 23ISA033.007 Behold, their valiant ones shall cry without: the ambassadors of peace shall weep bitterly. %%% Laba, abazira baabwe bakaabira bweru: ababaka ab'emirembe bakaaba nnyo amaziga. 23ISA033.008 The highways lie waste, the wayfaring man ceaseth: he hath broken the covenant, he hath despised the cities, he regardeth no man. %%% Enguudo zizise, omutambuze aggwaawo: amenye endagaano, anyoomye ebibuga, tassaayo mwoyo eri abantu. 23ISA033.009 The earth mourneth and languisheth: Lebanon is ashamed and hewn down: Sharon is like a wilderness; and Bashan and Carmel shake off their fruits. %%% Ensi ewuubaala eyongobera: Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka: Saloni ali ng'eddungu; ne Basani ne Kalumeeri bawaatula. 23ISA033.010 Now will I rise, saith the LORD; now will I be exalted; now will I lift up myself. %%% Kaakano naagolokoka, bw'ayogera Mukama; kaakano neeyimusa kaakano naagulumizibwa. 23ISA033.011 Ye shall conceive chaff, ye shall bring forth stubble: your breath, as fire, shall devour you. %%% Muliba mbuto za bisusunku, mulizaala ssubi: omukka gwammwe muliro ogulibookya. 23ISA033.012 And the people shall be as the burnings of lime: as thorns cut up shall they be burned in the fire. %%% N'amawanga galiba ng'okwokya kw'ensimbi: ng'amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro. 23ISA033.013 Hear, ye that are far off, what I have done; and, ye that are near, acknowledge my might. %%% Muwulire, mmwe abali ewala bye nkoze; nammwe abali okumpi mukkirize amaanyi gange. 23ISA033.014 The sinners in Zion are afraid; fearfulness hath surprised the hypocrites. Who among us shall dwell with the devouring fire? who among us shall dwell with everlasting burnings? %%% Abalina ebibi abali mu Sayuuni batidde; okukankana kugudde ku abo abatatya Katonda. Ani ku ffe alituula awamu n'omuliro ogwokya? ani ku ffe alituula awamu n'okwokya okutaliggwaawo? 23ISA033.015 He that walketh righteously, and speaketh uprightly; he that despiseth the gain of oppressions, that shaketh his hands from holding of bribes, that stoppeth his ears from hearing of blood, and shutteth his eyes from seeing evil; %%% Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima; oyo anyooma amagoba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi; 23ISA033.016 He shall dwell on high: his place of defence shall be the munitions of rocks: bread shall be given him; his waters shall be sure. %%% oyo ye alituula waggulu: ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja: emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira. 23ISA033.017 Thine eyes shall see the king in his beauty: they shall behold the land that is very far off. %%% Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe: galiraba ensi eziyimirira ewala. 23ISA033.018 Thine heart shall meditate terror. Where is the scribe? where is the receiver? where is he that counted the towers? %%% Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa: ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo? ali ludda wa oyo eyabala ebigo? 23ISA033.019 Thou shalt not see a fierce people, a people of a deeper speech than thou canst perceive; of a stammering tongue, that thou canst not understand. %%% Toliraba ggwanga kkakali, eggwanga eririna enjogera enzibu gy'otoyinza kumamya; eririna olulimi olunnaggwanga lw'otoyinza kutegeera. 23ISA033.020 Look upon Zion, the city of our solemnities: thine eyes shall see Jerusalem a quiet habitation, a tabernacle that shall not be taken down; not one of the stakes thereof shall ever be removed, neither shall any of the cords thereof be broken. %%% Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky'embaga zaffe: amaaso go galiraba Yerusaalemi nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa, enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna, so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa. 23ISA033.021 But there the glorious LORD will be unto us a place of broad rivers and streams; wherein shall go no galley with oars, neither shall gallant ship pass thereby. %%% Naye eyo Mukama alibeera naffe mu bukulu, ekifo eky'emigga emigazi n'ensulo; omutaliyita lyato erivugibwa, so n’ekyombo ekinene tekirigendamu. 23ISA033.022 For the LORD is our judge, the LORD is our lawgiver, the LORD is our king; he will save us. %%% Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w'amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola. 23ISA033.023 Thy tacklings are loosed; they could not well strengthen their mast, they could not spread the sail: then is the prey of a great spoil divided; the lame take the prey. %%% Emigwa gyo egisiba gisumulukuse; tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe, tebayinza kuwanika ttanga: awo ne bagereka ebintu eby'omunyago omunene; abawenyera baatwala omunyago. 23ISA033.024 And the inhabitant shall not say, I am sick: the people that dwell therein shall be forgiven their iniquity. %%% N'oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde: abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe. 23ISA034.001 Come near, ye nations, to hear; and hearken, ye people: let the earth hear, and all that is therein; the world, and all things that come forth of it. %%% Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu: ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu. 23ISA034.002 For the indignation of the LORD is upon all nations, and his fury upon all their armies: he hath utterly destroyed them, he hath delivered them to the slaughter. %%% Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna: abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa. 23ISA034.003 Their slain also shall be cast out, and their stink shall come up out of their carcases, and the mountains shall be melted with their blood. %%% Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya, n'ensozi zir23ISAanuuka olw'omusaayi gwabwe. 23ISA034.004 And all the host of heaven shall be dissolved, and the heavens shall be rolled together as a scroll: and all their host shall fall down, as the leaf falleth off from the vine, and as a falling fig from the fig tree. %%% N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka, n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula: n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini. 23ISA034.005 For my sword shall be bathed in heaven: behold, it shall come down upon Idumea, and upon the people of my curse, to judgment. %%% Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu: laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango. 23ISA034.006 The sword of the LORD is filled with blood, it is made fat with fatness, and with the blood of lambs and goats, with the fat of the kidneys of rams: for the LORD hath a sacrifice in Bozrah, and a great slaughter in the land of Idumea. %%% Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, k23ISAvuwadde n'amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume: kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu. 23ISA034.007 And the unicorns shall come down with them, and the bullocks with the bulls; and their land shall be soaked with blood, and their dust made fat with fatness. %%% N'embogo ziriserengeta wamu nazo, n'ente wamu ne ziseddume; n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n'enfuufu yaabwe er23ISAvuwala n'amasavu. 23ISA034.008 For it is the day of the LORD's vengeance, and the year of recompences for the controversy of Zion. %%% Kubanga lwe lunaku olw'okuwalana eggwanga lya Mukama, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni. 23ISA034.009 And the streams thereof shall be turned into pitch, and the dust thereof into brimstone, and the land thereof shall become burning pitch. %%% N'emigga gyayo girifuuka bulimbo, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka bulimbo obwaka. 23ISA034.010 It shall not be quenched night nor day; the smoke thereof shall go up for ever: from generation to generation it shall lie waste; none shall pass through it for ever and ever. %%% Terizikizibwa m23ISAna newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna: emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe. 23ISA034.011 But the cormorant and the bittern shall possess it; the owl also and the raven shall dwell in it: and he shall stretch out upon it the line of confusion, and the stones of emptiness. %%% Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne namuŋŋoona be banaatuulanga omwo: era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu. 23ISA034.012 They shall call the nobles thereof to the kingdom, but none shall be there, and all her princes shall be nothing. %%% Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo; n'abalangira baayo bonna baliba si kintu. 23ISA034.013 And thorns shall come up in her palaces, nettles and brambles in the fortresses thereof: and it shall be an habitation of dragons, and a court for owls. %%% N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo: era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya. 23ISA034.014 The wild beasts of the desert shall also meet with the wild beasts of the island, and the satyr shall cry to his fellow; the screech owl also shall rest there, and find for herself a place of rest. %%% N'ensolo enkambwe ez'omu ddungu zirisisinkana n'emisege, n'eya zigeye eriyitiriza ginnaayo; weewaawo, ennyonyi ey'ekiro erigwa eyo, ne yeerabira ekiwummulo. 23ISA034.015 There shall the great owl make her nest, and lay, and hatch, and gather under her shadow: there shall the vultures also be gathered, every one with her mate. %%% Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo: weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne. 23ISA034.016 Seek ye out of the book of the LORD, and read: no one of these shall fail, none shall want her mate: for my mouth it hath commanded, and his spirit it hath gathered them. %%% Munoonye mu kitabo kya Mukama musome: tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza. 23ISA034.017 And he hath cast the lot for them, and his hand hath divided it unto them by line: they shall possess it for ever, from generation to generation shall they dwell therein. %%% Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gubigabidde n'omugwa: binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo. 23ISA035.001 The wilderness and the solitary place shall be glad for them; and the desert shall rejoice, and blossom as the rose. %%% Olukoola n'amatongo birijaguza; n'eddungu lir23ISAnyuka, lir23ISAnsula ng'ekiyirikiti. 23ISA035.002 It shall blossom abundantly, and rejoice even with joy and singing: the glory of Lebanon shall be given unto it, the excellency of Carmel and Sharon, they shall see the glory of the LORD, and the excellency of our God. %%% Lirisukkiriza okusansula, lir23ISAnyuka n'essanyu n'okuyimba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni: baliraba ekitiibwa kya Mukama, obulungi obungi obwa Katonda waffe. 23ISA035.003 Strengthen ye the weak hands, and confirm the feeble knees. %%% Munyweze emikono eminafu, mukakase n'amaviivi agajugumira. 23ISA035.004 Say to them that are of a fearful heart, Be strong, fear not: behold, your God will come with vengeance, even God with a recompence; he will come and save you. %%% Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n'amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola. 23ISA035.005 Then the eyes of the blind shall be opened, and the ears of the deaf shall be unstopped. %%% Awo amaaso g'omuzibe w'amaaso ne galyoka gazibuka, n'amatu g'omuggavu w'amatu galigguka. 23ISA035.006 Then shall the lame man leap as an hart, and the tongue of the dumb sing: for in the wilderness shall waters break out, and streams in the desert. %%% Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangaazi, n'olulimi lwa kasiru luliyimba: kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n'emigga mu ddungu. 23ISA035.007 And the parched ground shall become a pool, and the thirsty land springs of water: in the habitation of dragons, where each lay, shall be grass with reeds and rushes. %%% N'omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n'ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi: mu kifo eky'ebibe mwe byagalamiranga, muliba omuddo n'essaalu n'ebitoogo. 23ISA035.008 And an highway shall be there, and a way, and it shall be called The way of holiness; the unclean shall not pass over it; but it shall be for those: the wayfaring men, though fools, shall not err therein. %%% Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo, era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali: abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu. 23ISA035.009 No lion shall be there, nor any ravenous beast shall go up thereon, it shall not be found there; but the redeemed shall walk there: %%% Teribaayo mpologoma, so tekulirinnyako nsolo yonna ey'amaddu, tezirirabikayo; naye abaanunulibwa be baliritambuliramu: 23ISA035.010 And the ransomed of the LORD shall return, and come to Zion with songs and everlasting joy upon their heads: they shall obtain joy and gladness, and sorrow and sighing shall flee away. %%% n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe: balifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda kuliddukira ddala. 23ISA036.001 Now it came to pass in the fourteenth year of king Hezekiah, that Sennacherib king of Assyria came up against all the defenced cities of Judah, and took them. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n'ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera, n'abimenya. 23ISA036.002 And the king of Assyria sent Rabshakeh from Lachish to Jerusalem unto king Hezekiah with a great army. And he stood by the conduit of the upper pool in the highway of the fuller's field. %%% Awo kabaka w’e Bwasuli n'agaba Labusake okuva e Lakisi okugenda e Yerusaalemi eri kabaka Keezeekiya ng'alina eggy'e eddene. N'ayimirira ku mabbali g'olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu mu luguudo olw'ennimiro ey'omwozi. 23ISA036.003 Then came forth unto him Eliakim, Hilkiah's son, which was over the house, and Shebna the scribe, and Joah, Asaph's son, the recorder. %%% Awo ne bafuluma ne bajja gy'ali Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali omukulu w'ennyumba, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza. 23ISA036.004 And Rabshakeh said unto them, Say ye now to Hezekiah, Thus saith the great king, the king of Assyria, What confidence is this wherein thou trustest? %%% Labusake n'abagamba nti Mugambe kaakano Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli, nti Bwesige ki buno bwe weesiga? 23ISA036.005 I say, sayest thou, (but they are but vain words) I have counsel and strength for war: now on whom dost thou trust, that thou rebellest against me? %%% Nze ŋŋamba nti okuteesa kwo n'amaanyi olw'entalo bigambo bugambo ebitaliimu: ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera nze? 23ISA036.006 Lo, thou trustest in the staff of this broken reed, on Egypt; whereon if a man lean, it will go into his hand, and pierce it: so is Pharaoh king of Egypt to all that trust in him. %%% Laba, weesigama ku muggo ogw'olumuli luno olubetentefu, ye Misiri; omuntu bwe yeesigama okwo, guyingira mu ngalo ze ne guzifumita: bw'atyo bw'abeera Falaawo kabaka w'e Misiri eri abo bonna abamwesiga. 23ISA036.007 But if thou say to me, We trust in the LORD our God: is it not he, whose high places and whose altars Hezekiah hath taken away, and said to Judah and to Jerusalem, Ye shall worship before this altar? %%% Naye bw'onoŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino? 23ISA036.008 Now therefore give pledges, I pray thee, to my master the king of Assyria, and I will give thee two thousand horses, if thou be able on thy part to set riders upon them. %%% Kale nno kaakano, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli nange naakuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe ku bubwo bw'onooyinza okuzeebagazaako abantu. 23ISA036.009 How then wilt thou turn away the face of one captain of the least of my master's servants, and put thy trust on Egypt for chariots and for horsemen? %%% Kale oyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi? 23ISA036.010 And am I now come up without the LORD against this land to destroy it? the LORD said unto me, Go up against this land, and destroy it. %%% Era kaakano nnyambuse okutabaala ensi eno okugizikiriza awatali Mukama? Mukama yaŋŋamba nti Yambuka otabaale ensi eno ogizikirize. 23ISA036.011 Then said Eliakim and Shebna and Joah unto Rabshakeh, Speak, I pray thee, unto thy servants in the Syrian language; for we understand it: and speak not to us in the Jews' language, in the ears of the people that are on the wall. %%% Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe. 23ISA036.012 But Rabshakeh said, Hath my master sent me to thy master and to thee to speak these words? hath he not sent me to the men that sit upon the wall, that they may eat their own dung, and drink their own piss with you? %%% Naye Labusake n'ayogera nti Mukama wange antumye eri mukama wo n'eri ggwe okwogera ebigambo bino? tantumye eri abantu abatuula ku bbugwe, okulya amazi gaabwe bo, n'okunywa enkali yaabwe bo awamu nammwe? 23ISA036.013 Then Rabshakeh stood, and cried with a loud voice in the Jews' language, and said, Hear ye the words of the great king, the king of Assyria. %%% Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddene mu lulimi olw'Abayudaaya n'ayogera nti Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli. 23ISA036.014 Thus saith the king, Let not Hezekiah deceive you: for he shall not be able to deliver you. %%% Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimbanga; kubanga taliyinza kubawonya: 23ISA036.015 Neither let Hezekiah make you trust in the LORD, saying, The LORD will surely deliver us: this city shall not be delivered into the hand of the king of Assyria. %%% so Keezeekiya tabasigulanga eri Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutuwonya; ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli. 23ISA036.016 Hearken not to Hezekiah: for thus saith the king of Assyria, Make an agreement with me by a present, and come out to me: and eat ye every one of his vine, and every one of his fig tree, and drink ye every one the waters of his own cistern; %%% Temuwuliranga Keezeekiya: kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi; mulyenga buli muntu ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era munywenga buli muntu ku mazzi ag'omu kidiba kye ye: 23ISA036.017 Until I come and take you away to a land like your own land, a land of corn and wine, a land of bread and vineyards. %%% okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku z'emizabbibu. 23ISA036.018 Beware lest Hezekiah persuade you, saying, The LORD will deliver us. Hath any of the gods of the nations delivered his land out of the hand of the king of Assyria? %%% Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng'ayogera nti Mukama alituwonya. Waliwo katonda yenna ow'amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli? 23ISA036.019 Where are the gods of Hamath and Arphad? where are the gods of Sepharvaim? and have they delivered Samaria out of my hand? %%% Bali ludda wa bakatonda ab'e Kamasi n'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda ab'e Sefavayimu? era baawonya Samaliya mu mukono gwange? 23ISA036.020 Who are they among all the gods of these lands, that have delivered their land out of my hand, that the LORD should deliver Jerusalem out of my hand? %%% Baani ku bakatonda bonna ab'ensi ezo abaawonya ensi yaabwe mu mukono gwange, Mukama okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange? 23ISA036.021 But they held their peace, and answered him not a word: for the king's commandment was, saying, Answer him not. %%% Naye ne basirika ne batamwanukula kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kiti nti Temumwanukulanga. 23ISA036.022 Then came Eliakim, the son of Hilkiah, that was over the household, and Shebna the scribe, and Joah, the son of Asaph, the recorder, to Hezekiah with their clothes rent, and told him the words of Rabshakeh. %%% Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake. 23ISA037.001 And it came to pass, when king Hezekiah heard it, that he rent his clothes, and covered himself with sackcloth, and went into the house of the LORD. %%% Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza engoye ze n'ayambala ebibukutu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama. 23ISA037.002 And he sent Eliakim, who was over the household, and Shebna the scribe, and the elders of the priests covered with sackcloth, unto Isaiah the prophet the son of Amoz. %%% N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nabbi mutabani wa Amozi. 23ISA037.003 And they said unto him, Thus saith Hezekiah, This day is a day of trouble, and of rebuke, and of blasphemy: for the children are come to the birth, and there is not strength to bring forth. %%% Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalwa, so tewali maanyi ga kuzaala. 23ISA037.004 It may be the LORD thy God will hear the words of Rabshakeh, whom the king of Assyria his master hath sent to reproach the living God, and will reprove the words which the LORD thy God hath heard: wherefore lift up thy prayer for the remnant that is left. %%% Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, kabaka w'e Bwasuli mukama we gw'atumye okuvuma Katonda omulamu, n'anenya ebigambo Mukama Katonda wo by'awulidde: kale yimusiza okusaba kwo ekitundu ekifisseewo. 23ISA037.005 So the servants of king Hezekiah came to Isaiah. %%% Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya. 23ISA037.006 And Isaiah said unto them, Thus shall ye say unto your master, Thus saith the LORD, Be not afraid of the words that thou hast heard, wherewith the servants of the king of Assyria have blasphemed me. %%% Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe munaagamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye. 23ISA037.007 Behold, I will send a blast upon him, and he shall hear a rumour, and return to his own land; and I will cause him to fall by the sword in his own land. %%% Laba, ndimuteekako omuzimu, naye aliwulira olugambo n'addayo mu nsi ye; era ndimusuula n'ekitala mu nsi ye ye. 23ISA037.008 So Rabshakeh returned, and found the king of Assyria warring against Libnah: for he had heard that he was departed from Lachish. %%% Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nga yasitula e Lakisi. 23ISA037.009 And he heard say concerning Tirhakah king of Ethiopia, He is come forth to make war with thee. And when he heard it, he sent messengers to Hezekiah, saying, %%% N'awulira nga boogera ebya Tiraka kabaka w'e Kuusi, nti Atabadde okulwana naawe. Awo bwe yakiwulira n'atuma ababaka eri Keezeekiya ng'ayogera nti 23ISA037.010 Thus shall ye speak to Hezekiah king of Judah, saying, Let not thy God, in whom thou trustest, deceive thee, saying, Jerusalem shall not be given into the hand of the king of Assyria. %%% Bwe mutyo bwe muligamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nga mwogera nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli. 23ISA037.011 Behold, thou hast heard what the kings of Assyria have done to all lands by destroying them utterly; and shalt thou be delivered? %%% Laba, owulidde bakabaka b'e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala: naawe oliwonyezebwa? 23ISA037.012 Have the gods of the nations delivered them which my fathers have destroyed, as Gozan, and Haran, and Rezeph, and the children of Eden which were in Telassar? %%% Bakatonda ab'amawanga baagawonya, bakitange ge baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abaana ba Edeni abaabanga mu Terasali? 23ISA037.013 Where is the king of Hamath, and the king of Arphad, and the king of the city of Sepharvaim, Hena, and Ivah? %%% Ali ludda wa kabaka w'e Kamasi ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu ow'e Keena ne Yiva? 23ISA037.014 And Hezekiah received the letter from the hand of the messengers, and read it: and Hezekiah went up unto the house of the LORD, and spread it before the LORD. %%% Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: Keezeeluya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama n'agyanjululiza mu maaso ga Mukama. 23ISA037.015 And Hezekiah prayed unto the LORD, saying, %%% Keezeekiya ne yeegayirira Mukama ng'ayogera nti 23ISA037.016 O LORD of hosts, God of Israel, that dwellest between the cherubims, thou art the God, even thou alone, of all the kingdoms of the earth: thou hast made heaven and earth. %%% Ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, wa bwakabaka bwonna obw'omu nsi; ggwe wakola eggulu n'ensi. 23ISA037.017 Incline thine ear, O LORD, and hear; open thine eyes, O LORD, and see: and hear all the words of Sennacherib, which hath sent to reproach the living God. %%% Tega okutu kwo, ai Mukama, owulire; zibula amaaso go, ai Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu, by'atumye okuvuma Katonda omulamu. 23ISA037.018 Of a truth, LORD, the kings of Assyria have laid waste all the nations, and their countries, %%% Mazima, Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n'ensi yaabwe, 23ISA037.019 And have cast their gods into the fire: for they were no gods, but the work of men's hands, wood and stone: therefore they have destroyed them. %%% ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 23ISA037.020 Now therefore, O LORD our God, save us from his hand, that all the kingdoms of the earth may know that thou art the LORD, even thou only. %%% Kale nno kaakano, ai Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka. 23ISA037.021 Then Isaiah the son of Amoz sent unto Hezekiah, saying, Thus saith the LORD God of Israel, Whereas thou hast prayed to me against Sennacherib king of Assyria: %%% Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ebya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, 23ISA037.022 This is the word which the LORD hath spoken concerning him; The virgin, the daughter of Zion, hath despised thee, and laughed thee to scorn; the daughter of Jerusalem hath shaken her head at thee. %%% kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: Omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja akunyoomye era akugadizza; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe. 23ISA037.023 Whom hast thou reproached and blasphemed? and against whom hast thou exalted thy voice, and lifted up thine eyes on high? even against the Holy One of Israel. %%% Ani gw'ovumye gw'ovodde? era ani gw'oyimusirizzaako eddoboozi lyo n'olalama amaaso go waggulu? ku Mutukuvu wa Isiraeri. 23ISA037.024 By thy servants hast thou reproached the Lord, and hast said, By the multitude of my chariots am I come up to the height of the mountains, to the sides of Lebanon; and I will cut down the tall cedars thereof, and the choice fir trees thereof: and I will enter into the height of his border, and the forest of his Carmel. %%% Oyimye mu baddu bo okuvuma Mukama n'oyogera nti N'amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y'olusozi, ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n'enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky'ennimiro ye eŋŋimu. 23ISA037.025 I have digged, and drunk water; and with the sole of my feet have I dried up all the rivers of the besieged places. %%% Nsimye era nnywedde amazzi, era ndikaliza emigga gyonna egy'e Misiri n'ebigere byange: 23ISA037.026 Hast thou not heard long ago, how I have done it; and of ancient times, that I have formed it? now have I brought it to pass, that thou shouldest be to lay waste defenced cities into ruinous heaps. %%% Towuliranga bwe nnakikola edda ennyo ne nkibumba okuva ebiro eby'edda? kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w'ebibuga ebiriko enkomera obifuule ebifunvu eby'ebyagwa: 23ISA037.027 Therefore their inhabitants were of small power, they were dismayed and confounded: they were as the grass of the field, and as the green herb, as the grass on the housetops, and as corn blasted before it be grown up. %%% Abaabituulangamu kyebaava babeera ab'amaanyi amatono, baatekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu nnimiro era ng'omuddo omubisi, ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, era ng'omusiri gw'eŋŋaano nga tennakula. 23ISA037.028 But I know thy abode, and thy going out, and thy coming in, and thy rage against me. %%% Naye mmanyi bw'otuula era bw'ofuluma era bw'oyingira era bw'onneesalirako akajegere. 23ISA037.029 Because thy rage against me, and thy tumult, is come up into mine ears, therefore will I put my hook in thy nose, and my bridle in thy lips, and I will turn thee back by the way by which thou camest. %%% Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu. 23ISA037.030 And this shall be a sign unto thee, Ye shall eat this year such as groweth of itself; and the second year that which springeth of the same: and in the third year sow ye, and reap, and plant vineyards, and eat the fruit thereof. %%% Era kano ke kaliba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo kye gumera; ne mu mwaka ogw'okusatu musiganga mukungulanga musimbanga ensuku z'emizabbibu mulyanga ebibala byamu. 23ISA037.031 And the remnant that is escaped of the house of Judah shall again take root downward, and bear fruit upward: %%% N'ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emmizi wansi ne babala ebibala waggulu. 23ISA037.032 For out of Jerusalem shall go forth a remnant, and they that escape out of mount Zion: the zeal of the LORD of hosts shall do this. %%% Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: obuggya bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo. 23ISA037.033 Therefore thus saith the LORD concerning the king of Assyria, He shall not come into this city, nor shoot an arrow there, nor come before it with shields, nor cast a bank against it. %%% Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako kifunvu. 23ISA037.034 By the way that he came, by the same shall he return, and shall not come into this city, saith the LORD. %%% Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama. 23ISA037.035 For I will defend this city to save it for mine own sake, and for my servant David's sake. %%% Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze era ne ku bw'omuddu wange Dawudi. 23ISA037.036 Then the angel of the LORD went forth, and smote in the camp of the Assyrians a hundred and fourscore and five thousand: and when they arose early in the morning, behold, they were all dead corpses. %%% Awo malayika wa Mukama n'afuluma n'atta mu lusiisira olw'Abaasuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu. 23ISA037.037 So Sennacherib king of Assyria departed, and went and returned, and dwelt at Nineveh. %%% Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve. 23ISA037.038 And it came to pass, as he was worshipping in the house of Nisroch his god, that Adrammelech and Sharezer his sons smote him with the sword; and they escaped into the land of Armenia: and Esarhaddon his son reigned in his stead. %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu kiggwa kya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n'ekitala: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n'amuddira mu bigere. 23ISA038.001 In those days was Hezekiah sick unto death. And Isaiah the prophet the son of Amoz came unto him, and said unto him, Thus saith the LORD, Set thine house in order: for thou shalt die, and not live. %%% Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n’amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama. 23ISA038.002 Then Hezekiah turned his face toward the wall, and prayed unto the LORD, %%% Awo Keezeekiya n'akyusiza amaaso ge ku kisenge ne yeegayirira Mukama n'ayogera nti 23ISA038.003 And said, Remember now, O LORD, I beseech thee, how I have walked before thee in truth and with a perfect heart, and have done that which is good in thy sight. And Hezekiah wept sore. %%% Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga. 23ISA038.004 Then came the word of the LORD to Isaiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya nti 23ISA038.005 Go, and say to Hezekiah, Thus saith the LORD, the God of David thy father, I have heard thy prayer, I have seen thy tears: behold, I will add unto thy days fifteen years. %%% Genda ogambe Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano. 23ISA038.006 And I will deliver thee and this city out of the hand of the king of Assyria: and I will defend this city. %%% Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli: era ndirwanirira ekibuga kino. 23ISA038.007 And this shall be a sign unto thee from the LORD, that the LORD will do this thing that he hath spoken; %%% Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli okuva eri Mukama nga Mukama alikola ekigambo kino ky'ayogedde: 23ISA038.008 Behold, I will bring again the shadow of the degrees, which is gone down in the sun dial of Ahaz, ten degrees backward. So the sun returned ten degrees, by which degrees it was gone down. %%% laba, nazzaayo ennyuma ekisiikirize ekiri ku madaala, ekikkidde ku madaala ga Akazi awamu, n'enjuba, ebbanga ery'amadaala ekkumi. Awo enjuba n'eddayo ebbanga ery'amadaala ekkumi ku madaala ge yali ekkiddeko. 23ISA038.009 The writing of Hezekiah king of Judah, when he had been sick, and was recovered of his sickness: %%% Okuwandiika kwa Keezeekiya kabaka wa Yuda, bwe yamala okulwala era ng'awonye endwadde ye. 23ISA038.010 I said in the cutting off of my days, I shall go to the gates of the grave: I am deprived of the residue of my years. %%% N'ayogera nti Mu ttuntu ly'ennaku zange mwe ndigendera mu miryango gy'emagombe: Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo. 23ISA038.011 I said, I shall not see the LORD, even the LORD, in the land of the living: I shall behold man no more with the inhabitants of the world. %%% N'ayogera nti Siriraba Mukama, Mukama mu nsi y'abalamu: Siriraba bantu nate wamu n'abatuula mu nsi. 23ISA038.012 Mine age is departed, and is removed from me as a shepherd's tent: I have cut off like a weaver my life: he will cut me off with pining sickness: from day even to night wilt thou make an end of me. %%% Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako ng'eweema ey'omusumba: Nzinze obulamu bwange ng'omulusi w'engoye; alinsala ku muti ogulukirwako: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala. 23ISA038.013 I reckoned till morning, that, as a lion, so will he break all my bones: from day even to night wilt thou make an end of me. %%% Neesirisa okutuusa enkya; ng'empologoma, bw'amenya bw'atyo amagumba gange gonna: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala. 23ISA038.014 Like a crane or a swallow, so did I chatter: I did mourn as a dove: mine eyes fail with looking upward: O LORD, I am oppressed; undertake for me. %%% Ng'akataayi oba sekanyolya, bwe nnavulungutana bwe ntyo; Nawuubaala nga kaamukuukulu: amaaso gange gafuuyirira olw'okulalama; Ai Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange. 23ISA038.015 What shall I say? he hath both spoken unto me, and himself hath done it: I shall go softly all my years in the bitterness of my soul. %%% Naayogera ntya? yayogedde nange era ye yennyini ye akikoze: Naatambulanga mpola emyaka gyange gyonna olw'okubalagalwa kw'obulamu bwange. 23ISA038.016 O LORD, by these things men live, and in all these things is the life of my spirit: so wilt thou recover me, and make me to live. %%% Ai Mukama, olw'ebyo abantu baba balamu, Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw'omwoyo gwange: Kale mponya onnamye. 23ISA038.017 Behold, for peace I had great bitterness: but thou hast in love to my soul delivered it from the pit of corruption: for thou hast cast all my sins behind thy back. %%% Laba, olw'emirembe gyange kyennava mbalagalwa ennyo: Naye ggwe olw'okwagala obulamu bwange obuwonyezza mu bunnya obuvundirwamu; Kubanga osudde ebibi byange byonna ennyuma w'amabega go. 23ISA038.018 For the grave cannot praise thee, death can not celebrate thee: they that go down into the pit cannot hope for thy truth. %%% Kubanga amagombe tegayinza kukutendereza, okufa tekuyinza kukusuuta: Abo abakka mu bunnya tebayinza kusuubira mazima go. 23ISA038.019 The living, the living, he shall praise thee, as I do this day: the father to the children shall make known thy truth. %%% Omulamu, omulamu ye alikutendereza nga nze bwe nkola leero Kitaabwe alitegeeza abaana amazima go. 23ISA038.020 The LORD was ready to save me: therefore we will sing my songs to the stringed instruments all the days of our life in the house of the LORD. %%% Mukama yeeteeseteese okundokola: Kyetunaavanga tuyimbira ennyimba zange mu nnanga Ennaku zonna ez'obulamu bwaffe mu nnyumba ya Mukama. 23ISA038.021 For Isaiah had said, Let them take a lump of figs, and lay it for a plaister upon the boil, and he shall recover. %%% Era Isaaya yali ayogedde nti Baddire ekitole ky'ettiini bakisiige ku jjute, era aliwona. 23ISA038.022 Hezekiah also had said, What is the sign that I shall go up to the house of the LORD? %%% Ne Keezeekiya yali ayogedde nti Kaluwa akabonero nga ndyambuka mu nnyumba ya Mukama? 23ISA039.001 At that time Merodachbaladan, the son of Baladan, king of Babylon, sent letters and a present to Hezekiah: for he had heard that he had been sick, and was recovered. %%% Mu biro ebyo Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka w'e Babulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye. 23ISA039.002 And Hezekiah was glad of them, and shewed them the house of his precious things, the silver, and the gold, and the spices, and the precious ointment, and all the house of his armour, and all that was found in his treasures: there was nothing in his house, nor in all his dominion, that Hezekiah shewed them not. %%% Keezeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'ennyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye, ne byonna ebyalabika mu bugagga bwe: tewaali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga. 23ISA039.003 Then came Isaiah the prophet unto king Hezekiah, and said unto him, What said these men? and from whence came they unto thee? And Hezekiah said, They are come from a far country unto me, even from Babylon. %%% Awo Isaaya nabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era baava wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ya wala okujja gye ndi, baava e Babulooni. 23ISA039.004 Then said he, What have they seen in thine house? And Hezekiah answered, All that is in mine house have they seen: there is nothing among my treasures that I have not shewed them. %%% Awo n'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu bugagga bwange kye ssibalaze. 23ISA039.005 Then said Isaiah to Hezekiah, Hear the word of the LORD of hosts: %%% Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama ow'eggye, 23ISA039.006 Behold, the days come, that all that is in thine house, and that which thy fathers have laid up in store until this day, shall be carried to Babylon: nothing shall be left, saith the LORD. %%% Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama. 23ISA039.007 And of thy sons that shall issue from thee, which thou shalt beget, shall they take away; and they shall be eunuchs in the palace of the king of Babylon. %%% Ne ku batabani bo abaliva mu ggwe b'olizaala balibatwalako; era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni. 23ISA039.008 Then said Hezekiah to Isaiah, Good is the word of the LORD which thou hast spoken. He said moreover, For there shall be peace and truth in my days. %%% Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Kavuna wanaabanga emirembe n'amazima mu mirembe gyange. 23ISA040.001 Comfort ye, comfort ye my people, saith your God. %%% Musanyuse, musanyuse abantu bange, bw'ayogera Katonda wammwe. 23ISA040.002 Speak ye comfortably to Jerusalem, and cry unto her, that her warfare is accomplished, that her iniquity is pardoned: for she hath received of the LORD's hand double for all her sins. %%% Mwogere eby'okusanyusa Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze zimalirizibbwa, ng'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; ng'aweereddwa mu mukono gwa Mukama emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna. 23ISA040.003 The voice of him that crieth in the wilderness, Prepare ye the way of the LORD, make straight in the desert a highway for our God. %%% Eddoboozi lyayogerera waggulu nti Mulongoose mu lukoola ekkubo lya Mukama, mugololere mu ddungu Katonda waffe oluguudo. 23ISA040.004 Every valley shall be exalted, and every mountain and hill shall be made low: and the crooked shall be made straight, and the rough places plain: %%% Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n'akasozi zirikkakkanyizibwa: n'obukyamu buligololwa, n'ebifo ebitali bisende biritereezebwa 23ISA040.005 And the glory of the LORD shall be revealed, and all flesh shall see it together: for the mouth of the LORD hath spoken it. %%% n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. 23ISA040.006 The voice said, Cry. And he said, What shall I cry? All flesh is grass, and all the goodliness thereof is as the flower of the field: %%% Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti Naayogerera ki waggulu? Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋanga ekimuli eky'omu nnimiro: 23ISA040.007 The grass withereth, the flower fadeth: because the spirit of the LORD bloweth upon it: surely the people is grass. %%% omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako: mazima abantu muddo: 23ISA040.008 The grass withereth, the flower fadeth: but the word of our God shall stand for ever. %%% Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera: naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna. 23ISA040.009 O Zion, that bringest good tidings, get thee up into the high mountain; O Jerusalem, that bringest good tidings, lift up thy voice with strength; lift it up, be not afraid; say unto the cities of Judah, Behold your God! %%% Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, Katonda wammwe! 23ISA040.010 Behold, the Lord GOD will come with strong hand, and his arm shall rule for him: behold, his reward is with him, and his work before him. %%% Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira: laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge. 23ISA040.011 He shall feed his flock like a shepherd: he shall gather the lambs with his arm, and carry them in his bosom, and shall gently lead those that are with young. %%% Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa. 23ISA040.012 Who hath measured the waters in the hollow of his hand, and meted out heaven with the span, and comprehended the dust of the earth in a measure, and weighed the mountains in scales, and the hills in a balance? %%% Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima? 23ISA040.013 Who hath directed the Spirit of the LORD, or being his counsellor hath taught him? %%% Ani eyali aluŋŋamizza omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n'amuyigiriza? 23ISA040.014 With whom took he counsel, and who instructed him, and taught him in the path of judgment, and taught him knowledge, and shewed to him the way of understanding? %%% Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza, n'amutegeeza mu kkubo ery'omusango, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera? 23ISA040.015 Behold, the nations are as a drop of a bucket, and are counted as the small dust of the balance: behold, he taketh up the isles as a very little thing. %%% Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'effufugge eriri mu minzaani: laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo. 23ISA040.016 And Lebanon is not sufficient to burn, nor the beasts thereof sufficient for a burnt offering. %%% Ne Lebanooni tamala kuba nku, so n'ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa. 23ISA040.017 All nations before him are as nothing; and they are counted to him less than nothing, and vanity. %%% Amawanga gonna gali nga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya. 23ISA040.018 To whom then will ye liken God? or what likeness will ye compare unto him? %%% Kale ani gwe mulifaananya Katonda: oba kifaananyi ki kye mulimugererako? 23ISA040.019 The workman melteth a graven image, and the goldsmith spreadeth it over with gold, and casteth silver chains. %%% Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza. 23ISA040.020 He that is so impoverished that he hath no oblation chooseth a tree that will not rot; he seeketh unto him a cunning workman to prepare a graven image, that shall not be moved. %%% Ayinze obwavu n'okuyinza n'atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda; yeenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka. 23ISA040.021 Have ye not known? have ye not heard? hath it not been told you from the beginning? have ye not understood from the foundations of the earth? %%% Temunnamanya? temunnawulira? temubuulirwanga okuva ku lubereberye, temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi? 23ISA040.022 It is he that sitteth upon the circle of the earth, and the inhabitants thereof are as grasshoppers; that stretcheth out the heavens as a curtain, and spreadeth them out as a tent to dwell in: %%% Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu: 23ISA040.023 That bringeth the princes to nothing; he maketh the judges of the earth as vanity. %%% afuula abalangira obutaba kintu; afuula abalamuzi b'ensi okuba ebirerya. 23ISA040.024 Yea, they shall not be planted; yea, they shall not be sown: yea, their stock shall not take root in the earth: and he shall also blow upon them, and they shall wither, and the whirlwind shall take them away as stubble. %%% Weewaawo, tebasimbibwanga weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mmizi mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku. 23ISA040.025 To whom then will ye liken me, or shall I be equal? saith the Holy One. %%% Kale ani gwe mulinfaananya nze okumwenkana? bw'ayogera Omutukuvu. 23ISA040.026 Lift up your eyes on high, and behold who hath created these things, that bringeth out their host by number: he calleth them all by names by the greatness of his might, for that he is strong in power; not one faileth. %%% Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw'ali, afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabwe bwe guli: byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako. 23ISA040.027 Why sayest thou, O Jacob, and speakest, O Israel, My way is hid from the LORD, and my judgment is passed over from my God? %%% Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange? 23ISA040.028 Hast thou not known? hast thou not heard, that the everlasting God, the LORD, the Creator of the ends of the earth, fainteth not, neither is weary? there is no searching of his understanding. %%% Tonnamanya? tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka. 23ISA040.029 He giveth power to the faint; and to them that have no might he increaseth strength. %%% Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. 23ISA040.030 Even the youths shall faint and be weary, and the young men shall utterly fall: %%% Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n'abalenzi baligwira ddala: 23ISA040.031 But they that wait upon the LORD shall renew their strength; they shall mount up with wings as eagles; they shall run, and not be weary; and they shall walk, and not faint. %%% naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika. 23ISA041.001 Keep silence before me, O islands; and let the people renew their strength: let them come near; then let them speak: let us come near together to judgment. %%% Musirike mu maaso gange, mmwe ebizinga, amawanga gaddemu obuggya amaanyi gaabwe: basembere; balyoke boogere: tusembere wamu eri omusango. 23ISA041.002 Who raised up the righteous man from the east, called him to his foot, gave the nations before him, and made him rule over kings? he gave them as the dust to his sword, and as driven stubble to his bow. %%% Ani ayimusizza omuntu ava ebuvanjuba, gw'ayita mu butuukirivu okujja ku kigere kye? agaba amawanga mu maaso ge, era amufuza bakabaka; abawa ekitala kye ng'enfuufu, ng'ebisasiro ebikuŋŋunsibwa eri omutego gwe. 23ISA041.003 He pursued them, and passed safely; even by the way that he had not gone with his feet. %%% Abagoba n'ayitawo mirembe; ayita mu kkubo ly'atayitangamu n'ebigere bye. 23ISA041.004 Who hath wrought and done it, calling the generations from the beginning? I the LORD, the first, and with the last; I am he. %%% Ani eyakireeta eyakikola, ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow'olubereberye era ow'enkonerero, nze wuuyo. 23ISA041.005 The isles saw it, and feared; the ends of the earth were afraid, drew near, and came. %%% Ebizinga byalaba ne bitya; enkomerero z'ensi zaakankana: baasembera ne bajja. 23ISA041.006 They helped every one his neighbour; and every one said to his brother, Be of good courage. %%% Baayamba buli muntu muliraanwa we; buli muntu n'agamba muganda we nti Guma omwoyo. 23ISA041.007 So the carpenter encouraged the goldsmith, and he that smootheth with the hammer him that smote the anvil, saying, It is ready for the sodering: and he fastened it with nails, that it should not be moved. %%% Awo omubazzi n'agumya omwoyo omuweesi wa zaabu, n'oyo asennyenta n'ennyondo n'agumya oyo akuba ku luyijja, ng'ayogera ku kyuma ekigatta nti Kirungi: n'akikomerera n'enninga kireme okusagaasagana. 23ISA041.008 But thou, Israel, art my servant, Jacob whom I have chosen, the seed of Abraham my friend. %%% Naye ggwe, Isiraeri, omuddu wange, Yakobo gwe nnalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange; 23ISA041.009 Thou whom I have taken from the ends of the earth, and called thee from the chief men thereof, and said unto thee, Thou art my servant; I have chosen thee, and not cast thee away. %%% gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne nkugamba nti Ggwe muddu wange, nakulonda so sikusuulanga; 23ISA041.010 Fear thou not; for I am with thee: be not dismayed; for I am thy God: I will strengthen thee; yea, I will help thee; yea, I will uphold thee with the right hand of my righteousness. %%% totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange. 23ISA041.011 Behold, all they that were incensed against thee shall be ashamed and confounded: they shall be as nothing; and they that strive with thee shall perish. %%% Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa: abo abawakana naawe baliba nga si kintu, era balibula. 23ISA041.012 Thou shalt seek them, and shalt not find them, even them that contended with thee: they that war against thee shall be as nothing, and as a thing of nought. %%% Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza: abo abalwana naawe baliba nga si kintu era ng'ekirerya. 23ISA041.013 For I the LORD thy God will hold thy right hand, saying unto thee, Fear not; I will help thee. %%% Kubanga nze Mukama Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga. 23ISA041.014 Fear not, thou worm Jacob, and ye men of Israel; I will help thee, saith the LORD, and thy redeemer, the Holy One of Israel. %%% Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo, nammwe abasajja ba Isiraeri; nze naakuyambanga, bw'ayogera Mukama, era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo. 23ISA041.015 Behold, I will make thee a new sharp threshing instrument having teeth: thou shalt thresh the mountains, and beat them small, and shalt make the hills as chaff. %%% Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo: ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala, n'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku. 23ISA041.016 Thou shalt fan them, and the wind shall carry them away, and the whirlwind shall scatter them: and thou shalt rejoice in the LORD, and shalt glory in the Holy One of Israel. %%% Oliziwujja, empewo n'ezifuumuula, embuyaga ez'akazimu ne zizisaasaanya: naawe olisanyukira Mukama, olyenyumiririza Omutukuvu wa Isiraeri. 23ISA041.017 When the poor and needy seek water, and there is none, and their tongue faileth for thirst, I the LORD will hear them, I the God of Israel will not forsake them. %%% Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka. 23ISA041.018 I will open rivers in high places, and fountains in the midst of the valleys: I will make the wilderness a pool of water, and the dry land springs of water. %%% Ndizibikula emigga ku nsozi ez'obweru n'ensulo wakati mu biwonvu: ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi. 23ISA041.019 I will plant in the wilderness the cedar, the shittah tree, and the myrtle, and the oil tree; I will set in the desert the fir tree, and the pine, and the box tree together: %%% Ndisimba mu lukoola omuvule n'omusita n'omumwanyi n'omuzeyituuni; nditeeka mu ddungu enfugo n'omuyovu ne namukago wamu: 23ISA041.020 That they may see, and know, and consider, and understand together, that the hand of the LORD hath done this, and the Holy One of Israel hath created it. %%% balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze. 23ISA041.021 Produce your cause, saith the LORD; bring forth your strong reasons, saith the King of Jacob. %%% Muleete ensonga yammwe, bw'ayogera Mukama; mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo. 23ISA041.022 Let them bring them forth, and shew us what shall happen: let them shew the former things, what they be, that we may consider them, and know the latter end of them; or declare us things for to come. %%% Bazireete, batubuulire ebigenda okubaawo: mubuulire ebyasooka okubaawo bwe biri, tubirowooze tutegeere enkomerero yaabyo ey'oluvannyuma; oba mutulage ebigenda okujja. 23ISA041.023 Shew the things that are to come hereafter, that we may know that ye are gods: yea, do good, or do evil, that we may be dismayed, and behold it together. %%% Mubuulire ebigambo ebijja okubaawo oluvannyuma, tulyoke tutegeere nga muli bakatonda: weewaawo, mukole obulungi oba mukole obubi tukeŋŋentererwe tukirabire wamu. 23ISA041.024 Behold, ye are of nothing, and your work of nought: an abomination is he that chooseth you. %%% Laba, temuliiko gye muva, so n'omulimu gwammwe teguliiko gye guva: oyo abalonda wa muzizo. 23ISA041.025 I have raised up one from the north, and he shall come: from the rising of the sun shall he call upon my name: and he shall come upon princes as upon morter, and as the potter treadeth clay. %%% Nnyimusizza omuntu ava obukiika obwa kkono, era atuuse; okuva ebuvanjuba omuntu ayita erinnya lyange: era alijja ku bafuga nga ku ttaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba. 23ISA041.026 Who hath declared from the beginning, that we may know? and beforetime, that we may say, He is righteous? yea, there is none that sheweth, yea, there is none that declareth, yea, there is none that heareth your words. %%% Ani eyakibuulira okuva ku lubereberye tulyoke tumanye? era mu biro eby'edda tulyoke twogere nti Mutuukirivu? weewaawo, tewali abuulira, weewaawo, tewali alaga, weewaawo, tewali awulira ebigambo byammwe. 23ISA041.027 The first shall say to Zion, Behold, behold them: and I will give to Jerusalem one that bringeth good tidings. %%% Ndisooka okugamba Sayuuni nti Balabe, balabe; era ndiwa Yerusaalemi omuntu aleeta ebigambo ebirungi. 23ISA041.028 For I beheld, and there was no man; even among them, and there was no counsellor, that, when I asked of them, could answer a word. %%% Era bwe ntunula, tewali muntu; mu bo bennyini temuli ateesa ebigambo, ayinza okwanukula ekigambo bwe mbabuuza. 23ISA041.029 Behold, they are all vanity; their works are nothing: their molten images are wind and confusion. %%% Laba, bo bonna emirimu gyabwe birerya so si kintu: ebifaananyi byabwe ebyole mpewo na kwetabula. 23ISA042.001 Behold my servant, whom I uphold; mine elect, in whom my soul delighteth; I have put my spirit upon him: he shall bring forth judgment to the Gentiles. %%% Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira: ntadde omwoyo gwange ku ye; alyolesa omusango eri ab'amawanga. 23ISA042.002 He shall not cry, nor lift up, nor cause his voice to be heard in the street. %%% Talireekaana so taliyimusa so taliwuliza ddoboozi lye mu luguudo. 23ISA042.003 A bruised reed shall he not break, and the smoking flax shall he not quench: he shall bring forth judgment unto truth. %%% Olumuli olubetentefu talirumenya so n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza: alyolesa omusango mu mazima. 23ISA042.004 He shall not fail nor be discouraged, till he have set judgment in the earth: and the isles shall wait for his law. %%% Talizirika so talikeŋŋentererwa okutuusa lw'alisimba omusango mu nsi; n'ebizinga biririndirira amateeka ge. 23ISA042.005 Thus saith God the LORD, he that created the heavens, and stretched them out; he that spread forth the earth, and that which cometh out of it; he that giveth breath unto the people upon it, and spirit to them that walk therein: %%% Bw'atyo bw'ayogera Katonda, Mukama eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako: 23ISA042.006 I the LORD have called thee in righteousness, and will hold thine hand, and will keep thee, and give thee for a covenant of the people, for a light of the Gentiles; %%% nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, era naakwatanga ku mukono gwo era naakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga; 23ISA042.007 To open the blind eyes, to bring out the prisoners from the prison, and them that sit in darkness out of the prison house. %%% okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera. 23ISA042.008 I am the LORD: that is my name: and my glory will I not give to another, neither my praise to graven images. %%% Nze Mukama; eryo lye linnya lyange: n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newakubadde ettendo lyange eri ebifaananyi ebyole. 23ISA042.009 Behold, the former things are come to pass, and new things do I declare: before they spring forth I tell you of them. %%% Laba, ebyasooka okubaawo bituuse, n'ebiggya mbibuulira: nga tebinnaba kulabika mbibabuulira. 23ISA042.010 Sing unto the LORD a new song, and his praise from the end of the earth, ye that go down to the sea, and all that is therein; the isles, and the inhabitants thereof. %%% Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, n'ettendo lye okuva ku nkomerero y'ensi; mmwe abaserengetera ku nnyanja ne byonna ebigirimu, ebizinga n'ababituulako. 23ISA042.011 Let the wilderness and the cities thereof lift up their voice, the villages that Kedar doth inhabit: let the inhabitants of the rock sing, let them shout from the top of the mountains. %%% Eddungu n'ebibuga byamu biyimuse eddoboozi lyabyo, ebyalo Kedali mw'atuula; abatuula mu Seera bayimbe, boogerere waggulu nga bayima ku ntikko z'ensozi. 23ISA042.012 Let them give glory unto the LORD, and declare his praise in the islands. %%% Bamuwe Mukama ekitiibwa, era babuulire ettendo lye mu bizinga. 23ISA042.013 The LORD shall go forth as a mighty man, he shall stir up jealousy like a man of war: he shall cry, yea, roar; he shall prevail against his enemies. %%% Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; alibakwasa obuggya ng'omutabaazi: alireekaana, weewaawo, alyogerera waggulu; alikola abalabe be eby'amaanyi. 23ISA042.014 I have long time holden my peace; I have been still, and refrained myself: now will I cry like a travailing woman; I will destroy and devour at once. %%% Naludde okusirika; nabeerera awo ne nzibiikiriza: kaakano naayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala; naalaakiira ne mpejjerawejjera wamu. 23ISA042.015 I will make waste mountains and hills, and dry up all their herbs; and I will make the rivers islands, and I will dry up the pools. %%% Ndizikiriza ensozi n'obusozi, ne mpotosa emiddo gyako gyonna; era ndifuula emigga ebizinga ne nkaliza ebidiba. 23ISA042.016 And I will bring the blind by a way that they knew not; I will lead them in paths that they have not known: I will make darkness light before them, and crooked things straight. These things will I do unto them, and not forsake them. %%% Era ndireeta abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa: ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka. 23ISA042.017 They shall be turned back, they shall be greatly ashamed, that trust in graven images, that say to the molten images, Ye are our gods. %%% Balikyusibwa okudda ennyuma, balikwasibwa ensonyi nnyingi, abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebisaanuuse nti Mmwe muli bakatonda baffe. 23ISA042.018 Hear, ye deaf; and look, ye blind, that ye may see. %%% Muwulire, mmwe abaggavu b'amatu; mutunule, mmwe abazibe b'amaaso, mulyoke mulabe. 23ISA042.019 Who is blind, but my servant? or deaf, as my messenger that I sent? who is blind as he that is perfect, and blind as the LORD's servant? %%% Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange? oba muggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma? ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange era omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama? 23ISA042.020 Seeing many things, but thou observest not; opening the ears, but he heareth not. %%% Olaba bingi naye teweetegereza; amatu ge gagguse naye tawulira. 23ISA042.021 The LORD is well pleased for his righteousness' sake; he will magnify the law, and make it honourable. %%% Mukama yasiima, olw'obutuukirivu bwe, okukuza amateeka n'okugassaamu ekitiibwa. 23ISA042.022 But this is a people robbed and spoiled; they are all of them snared in holes, and they are hid in prison houses: they are for a prey, and none delivereth; for a spoil, and none saith, Restore. %%% Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa bo bonna bateegebwa mu bunnya, era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera: ba kunyagibwa so tewali awonya; ba kukambuulibwa so tewali ayogera nti Zzaayo. 23ISA042.023 Who among you will give ear to this? who will hearken and hear for the time to come? %%% Ani ku mmwe anaategera ekyo okutu? anaategereza n'awulira olw'ebiro ebigenda okujja? 23ISA042.024 Who gave Jacob for a spoil, and Israel to the robbers? did not the LORD, he against whom we have sinned? for they would not walk in his ways, neither were they obedient unto his law. %%% Ani eyawaayo Yakobo okukambuulibwa ne Isiraeri eri abanyazi? si Mukama? oyo gwe twayonoona, so tebaaganya kutambulira mu makubo ge, so tebaagondera mateeka ge. 23ISA042.025 Therefore he hath poured upon him the fury of his anger, and the strength of battle: and it hath set him on fire round about, yet he knew not; and it burned him, yet he laid it not to heart. %%% Kyeyava amufukako ekiruyi eky'obusungu bwe n'amaanyi ag'entalo; ne kimwokya enjuyi zonna era teyamanya; era kyamusonsomola, era teyakissaako mwoyo. 23ISA043.001 But now thus saith the LORD that created thee, O Jacob, and he that formed thee, O Israel, Fear not: for I have redeemed thee, I have called thee by thy name; thou art mine. %%% Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti Totya, kubanga nakununula; nakuyita erinnya lyo, oli wange. 23ISA043.002 When thou passest through the waters, I will be with thee; and through the rivers, they shall not overflow thee: when thou walkest through the fire, thou shalt not be burned; neither shall the flame kindle upon thee. %%% Bw'onooyitanga mu mazzi, naabeeranga naawe; ne mu migga, tegirikusaanyaawo: bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga; so n'omuliro tegulyakira ku ggwe. 23ISA043.003 For I am the LORD thy God, the Holy One of Israel, thy Saviour: I gave Egypt for thy ransom, Ethiopia and Seba for thee. %%% Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo, Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo; nawaayo Misiri okuba ekinunulo kyo, Kuusi ne Seba ku lulwo. 23ISA043.004 Since thou wast precious in my sight, thou hast been honourable, and I have loved thee: therefore will I give men for thee, and people for thy life. %%% Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo. 23ISA043.005 Fear not: for I am with thee: I will bring thy seed from the east, and gather thee from the west; %%% Totya; kubanga nze ndi wamu naawe: ndireeta ezzadde lyo okuliggya ebuvanjuba ne nkukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba; 23ISA043.006 I will say to the north, Give up; and to the south, Keep not back: bring my sons from far, and my daughters from the ends of the earth; %%% ndigamba obukiika obwa kkono nti Waayo; n'obukiika obwa ddyo nti Togaana nabo; leeta batabani bange okubaggya ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi; 23ISA043.007 Even every one that is called by my name: for I have created him for my glory, I have formed him; yea, I have made him. %%% buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; nze namubumba; weewaawo, namukola. 23ISA043.008 Bring forth the blind people that have eyes, and the deaf that have ears. %%% Fulumya abazibe b'amaaso abalina amaaso n'abaggavu b'amatu abalina amatu. 23ISA043.009 Let all the nations be gathered together, and let the people be assembled: who among them can declare this, and shew us former things? let them bring forth their witnesses, that they may be justified: or let them hear, and say, It is truth. %%% Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu n'abantu beetabe: ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n'atulaga ebyasooka okubaawo? baleete abajulirwa baabwe baweebwe obutuukirivu: oba bawulire boogere nti Bya mazima. 23ISA043.010 Ye are my witnesses, saith the LORD, and my servant whom I have chosen: that ye may know and believe me, and understand that I am he: before me there was no God formed, neither shall there be after me. %%% Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama n'omuweereza wange gwe nnalonda mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra. 23ISA043.011 I, even I, am the LORD; and beside me there is no saviour. %%% Nze, nze mwene, nze Mukama so tewali mulokozi wabula nze. 23ISA043.012 I have declared, and have saved, and I have shewed, when there was no strange god among you: therefore ye are my witnesses, saith the LORD, that I am God. %%% Nze nabuulira era nalokola era nalaga, so tewabanga mu mmwe katonda mulala: kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, nange ndi Katonda. 23ISA043.013 Yea, before the day was I am he; and there is none that can deliver out of my hand: I will work, and who shall let it? %%% Weewaawo, omusana kasookedde gubaawo era nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya mu mukono gwange: ndikola omulimu, era ani ali guziyiza? 23ISA043.014 Thus saith the LORD, your redeemer, the Holy One of Israel; For your sake I have sent to Babylon, and have brought down all their nobles, and the Chaldeans, whose cry is in the ships. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Ku lwammwe natuma e Babulooni, era ndibaserengesa bonma ng'abadduse, be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe. 23ISA043.015 I am the LORD, your Holy One, the creator of Israel, your King. %%% Nze ndi Mukama Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe. 23ISA043.016 Thus saith the LORD, which maketh a way in the sea, and a path in the mighty waters; %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama akuba oluguudo mu nnyanja n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi. 23ISA043.017 Which bringeth forth the chariot and horse, the army and the power; they shall lie down together, they shall not rise: they are extinct, they are quenched as tow. %%% afulumya eggaali n'embalaasi eggye n'obuyinza; bagalamira wamu, tebaligolokoka; bazikiridde, bazikidde ng'enfuuzi: nti 23ISA043.018 Remember ye not the former things, neither consider the things of old. %%% Temujjukira ebyasooka okubaawo, so temulowooza bigambo bya dda. 23ISA043.019 Behold, I will do a new thing; now it shall spring forth; shall ye not know it? I will even make a way in the wilderness, and rivers in the desert. %%% Laba, ndikola ekigambo ekiggya kaakano kirirabika; temulikimanya ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu. 23ISA043.020 The beast of the field shall honour me, the dragons and the owls: because I give waters in the wilderness, and rivers in the desert, to give drink to my people, my chosen. %%% Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange: 23ISA043.021 This people have I formed for myself; they shall shew forth my praise. %%% abantu be nneebumbira nzekka boolesenga ettendo lyange. 23ISA043.022 But thou hast not called upon me, O Jacob; but thou hast been weary of me, O Israel. %%% Naye tonkaabiranga, ggwe Yakobo; naye wantamwa, ggwe Isiraeri. 23ISA043.023 Thou hast not brought me the small cattle of thy burnt offerings; neither hast thou honoured me with thy sacrifices. I have not caused thee to serve with an offering, nor wearied thee with incense. %%% Tondeeteranga nsolo ntono ey'ebibyo ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikuweerezesanga n'ebiweebwayo so sikukooyesanga na mugavu. 23ISA043.024 Thou hast bought me no sweet cane with money, neither hast thou filled me with the fat of thy sacrifices: but thou hast made me to serve with thy sins, thou hast wearied me with thine iniquities. %%% Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza, so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo naye ggwe wampeerezesa n'ebibi byo, wankooyesa n'obutali butuukirivu bwo. 23ISA043.025 I, even I, am he that blotteth out thy transgressions for mine own sake, and will not remember thy sins. %%% Nze, nze mwene, nze nzuuyo sangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo. 23ISA043.026 Put me in remembrance: let us plead together: declare thou, that thou mayest be justified. %%% Njijukiza; tuwoze fembi: leeta ensonga yo olyoke oweebwe obutuukirivu. 23ISA043.027 Thy first father hath sinned, and thy teachers have transgressed against me. %%% Kitaawo eyasooka yayonoona n'abategeeza bo bansobya. 23ISA043.028 Therefore I have profaned the princes of the sanctuary, and have given Jacob to the curse, and Israel to reproaches. %%% Kyendiva nvumisa abakulu ab'omu watukuvu, era ndifuula Yakobo ekikolimo ne Isiraeri ekivume. 23ISA044.001 Yet now hear, O Jacob my servant; and Israel, whom I have chosen: %%% Naye kaakano wulira, ggwe Yakobo omuweereza wange: ne Isiraeri gwe nnalonda: 23ISA044.002 Thus saith the LORD that made thee, and formed thee from the womb, which will help thee; Fear not, O Jacob, my servant; and thou, Jesurun, whom I have chosen. %%% bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola naakubumba okuva mu lubuto, naakuyambanga, nti Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; naawe Yesuluni gwe nnalonda. 23ISA044.003 For I will pour water upon him that is thirsty, and floods upon the dry ground: I will pour my spirit upon thy seed, and my blessing upon thine offspring: %%% Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumiddwa ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo: 23ISA044.004 And they shall spring up as among the grass, as willows by the water courses. %%% era baliroka mu muddo ng'enzingu ku mabbali g'emigga. 23ISA044.005 One shall say, I am the LORD's; and another shall call himself by the name of Jacob; and another shall subscribe with his hand unto the LORD, and surname himself by the name of Israel. %%% Walibaawo aligamba nti Nze wa Mukama; n'omulala alyetuuma eriinya lya Yakobo; n'omulala aliwandiika n'omukono gwe nga wa Mukama, ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri. 23ISA044.006 Thus saith the LORD the King of Israel, and his redeemer the LORD of hosts; I am the first, and I am the last; and beside me there is no God. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa komerero; so tewali Katonda wabula nze. 23ISA044.007 And who, as I, shall call, and shall declare it, and set it in order for me, since I appointed the ancient people? and the things that are coming, and shall come, let them shew unto them. %%% Era ani, nga nze, aliyita n'akibuulira n'akinteekerateeera, kasookedde nzizaawo eggwanga ery'edda? n'ebyo ebijja okujja n’ebyo ebiribaawo babibuulire. 23ISA044.008 Fear ye not, neither be afraid: have not I told thee from that time, and have declared it? ye are even my witnesses. Is there a God beside me? yea, there is no God; I know not any. %%% Temutya so temutekemuka: obw'edda saakubuulira ne nkiraga? nammwe muli bajulirwa bange. Waliwo Katonda wabula nze? weewaawo, tewali Lwazi; nze siriiko lwe nmanyi. 23ISA044.009 They that make a graven image are all of them vanity; and their delectable things shall not profit; and they are their own witnesses; they see not, nor know; that they may be ashamed. %%% Abo abakola ekifaananyi ekyole bonna birerya; n'ebintu byabwe eby'okwesiima tebiriiko kye birigasa: n'abajulirwa baabwe bo tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi. 23ISA044.010 Who hath formed a god, or molten a graven image that is profitable for nothing? %%% Ani eyakola katonda oba eyasaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kigasa? 23ISA044.011 Behold, all his fellows shall be ashamed: and the workmen, they are of men: let them all be gathered together, let them stand up; yet they shall fear, and they shall be ashamed together. %%% Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi ba mu bantu: bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi. 23ISA044.012 The smith with the tongs both worketh in the coals, and fashioneth it with hammers, and worketh it with the strength of his arms: yea, he is hungry, and his strength faileth: he drinketh no water, and is faint. %%% Omuweesi ng'aweesa embazzi n'ayisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera. 23ISA044.013 The carpenter stretcheth out his rule; he marketh it out with a line; he fitteth it with planes, and he marketh it out with the compass, and maketh it after the figure of a man, according to the beauty of a man; that it may remain in the house. %%% Omubazzi ng'aleega omugwa; ng'akiramba n'ekkalaamu; ng'akisaanya n'eranda n'akiramba kyonna n'ekyuma ekigera, n'akifaananya ekifaananyi ky'omuntu, ng'obulungi bw'omuntu bwe buli, okutuulanga mu nnyumba. 23ISA044.014 He heweth him down cedars, and taketh the cypress and the oak, which he strengtheneth for himself among the trees of the forest: he planteth an ash, and the rain doth nourish it. %%% Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza. 23ISA044.015 Then shall it be for a man to burn: for he will take thereof, and warm himself; yea, he kindleth it, and baketh bread; yea, he maketh a god, and worshippeth it; he maketh it a graven image, and falleth down thereto. %%% Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira. 23ISA044.016 He burneth part thereof in the fire; with part thereof he eateth flesh; he roasteth roast, and is satisfied: yea, he warmeth himself, and saith, Aha, I am warm, I have seen the fire: %%% Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro: 23ISA044.017 And the residue thereof he maketh a god, even his graven image: he falleth down unto it, and worshippeth it, and prayeth unto it, and saith, Deliver me; for thou art my god. %%% n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange. 23ISA044.018 They have not known nor understood: for he hath shut their eyes, that they cannot see; and their hearts, that they cannot understand. %%% Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera. 23ISA044.019 And none considereth in his heart, neither is there knowledge nor understanding to say, I have burned part of it in the fire; yea, also I have baked bread upon the coals thereof; I have roasted flesh, and eaten it: and shall I make the residue thereof an abomination? shall I fall down to the stock of a tree? %%% So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? n'avuunamira ekisiki ky'omuti? 23ISA044.020 He feedeth on ashes: a deceived heart hath turned him aside, that he cannot deliver his soul, nor say, Is there not a lie in my right hand? %%% Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo? 23ISA044.021 Remember these, O Jacob and Israel; for thou art my servant: I have formed thee; thou art my servant: O Israel, thou shalt not be forgotten of me. %%% Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo; naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange: nze nakubumba; ggwe muweereza wange: ggwe Isiraeri, sirikwerabira. 23ISA044.022 I have blotted out, as a thick cloud, thy transgressions, and, as a cloud, thy sins: return unto me; for I have redeemed thee. %%% Nsangudde ebyonoono byo ng'ekire ekiziyivu, n'ebibi byo ng'ekire: komawo gye ndi; kubanga nakunnnula. 23ISA044.023 Sing, O ye heavens; for the LORD hath done it: shout, ye lower parts of the earth: break forth into singing, ye mountains, O forest, and every tree therein: for the LORD hath redeemed Jacob, and glorified himself in Israel. %%% Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze; mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi; mubaguke okuyimba, mmwe ensozi, ggwe ekibira na buli muti ogulimu: kubanga Mukama yanunula Yakobo era alyegulumiriza mu Isiraeri. 23ISA044.024 Thus saith the LORD, thy redeemer, and he that formed thee from the womb, I am the LORD that maketh all things; that stretcheth forth the heavens alone; that spreadeth abroad the earth by myself; %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, era eyakubumba okuva mu lubuto, nti Nze Mukama akola byonna; abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani ali awamu nange? 23ISA044.025 That frustrateth the tokens of the liars, and maketh diviners mad; that turneth wise men backward, and maketh their knowledge foolish; %%% atta obubonero obw'abalimba era alalusa abalogo; akyusa abagezigezi okudda ennyuma ne nsiruwaza amagezi gaabwe: 23ISA044.026 That confirmeth the word of his servant, and performeth the counsel of his messengers; that saith to Jerusalem, Thou shalt be inhabited; and to the cities of Judah, Ye shall be built, and I will raise up the decayed places thereof: %%% anyweza ekigambo eky'omuweereza we ne ntuukiriza okuteesa kw'ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti Kirituulwamu; ne ku bibuga bya Yuda nti Birizimbibwa, nange ndigolokosa ebifo byamu ebyazika: 23ISA044.027 That saith to the deep, Be dry, and I will dry up thy rivers: %%% agamba obuziba nti Kalira, nange ndikaliza emigga: 23ISA044.028 That saith of Cyrus, He is my shepherd, and shall perform all my pleasure: even saying to Jerusalem, Thou shalt be built; and to the temple, Thy foundation shall be laid. %%% ayogera ku Kuulo nti Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna: n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti Kirizimbibwa; era agamba yeekaalu nti Omusingi gwo guliteekebwawo. 23ISA045.001 Thus saith the LORD to his anointed, to Cyrus, whose right hand I have holden, to subdue nations before him; and I will loose the loins of kings, to open before him the two leaved gates; and the gates shall not be shut; %%% Bw'atyo Mukama bw'agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo, gwe nkutte ku mukono gwe ogwa ddyo, okujeemula amawanga mu maaso ge, era ndisumulula ebiwato bya bakabaka; okuggulawo enzigi mu maaso ge ne ziwankaaki teziriggalwawo; 23ISA045.002 I will go before thee, and make the crooked places straight: I will break in pieces the gates of brass, and cut in sunder the bars of iron: %%% ndikukulembera ne atereeza ebifo ebitali bisende: ndimenyaamenya enzigi ez'ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby'ebyuma: 23ISA045.003 And I will give thee the treasures of darkness, and hidden riches of secret places, that thou mayest know that I, the LORD, which call thee by thy name, am the God of Israel. %%% era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga ndi Mukama akuyita erinnya lyo, Katonda wa Isiraeri 23ISA045.004 For Jacob my servant's sake, and Israel mine elect, I have even called thee by thy name: I have surnamed thee, though thou hast not known me. %%% Ku lwa Yakobo omuweereza wange kyenvudde nkuyita erinnya lyo: nkutuumye erinnya newakubadde nga tommanyanga. 23ISA045.005 I am the LORD, and there is none else, there is no God beside me: I girded thee, though thou hast not known me: %%% Nze Mukama so tewali mulala; tewali Katonda wabula nze: ndikusiba olukoba, newakubadde nga tommanyanga: 23ISA045.006 That they may know from the rising of the sun, and from the west, that there is none beside me. I am the LORD, and there is none else. %%% balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze: nze Mukama so tewali mulala. 23ISA045.007 I form the light, and create darkness: I make peace, and create evil: I the LORD do all these things. %%% Nze mmumba omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna. 23ISA045.008 Drop down, ye heavens, from above, and let the skies pour down righteousness: let the earth open, and let them bring forth salvation, and let righteousness spring up together; I the LORD have created it. %%% Ggwe eggulu, tonnyesa okuva waggulu, n'ebbanga littulukuse obutuukirivu: ensi eyasame, baggyemu obulokozi, emeze obutuukirivu wamu; nze Mukama nagitonda. 23ISA045.009 Woe unto him that striveth with his Maker! Let the potsherd strive with the potsherds of the earth. Shall the clay say to him that fashioneth it, What makest thou? or thy work, He hath no hands? %%% Zisanze oyo awakana n'Omukozi we! olugyo mu ngyo ez'ensi! Ebbumba lirigamba oyo alibumba nti Okola ki? oba omulimu gwo guligamba nti Talina ngalo? 23ISA045.010 Woe unto him that saith unto his father, What begettest thou? or to the woman, What hast thou brought forth? %%% Zimusanze oyo agamba kitaawe nti Ozaala ki? oba omukazi nti Olumwa kuzaala ki? 23ISA045.011 Thus saith the LORD, the Holy One of Israel, and his Maker, Ask me of things to come concerning my sons, and concerning the work of my hands command ye me. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri era Omukozi we, nti Mumbuuze ebigambo ebigenda okujja; ebya batabani bange, n'eby'omulimu gw'engalo zange mundagire. 23ISA045.012 I have made the earth, and created man upon it: I, even my hands, have stretched out the heavens, and all their host have I commanded. %%% Nakola ensi ne ntondera abantu mu yo: nze, engalo zange, nabamba eggulu, n'eggye lyalyo lyonna nze naliragira. 23ISA045.013 I have raised him up in righteousness, and I will direct all his ways: he shall build my city, and he shall let go my captives, not for price nor reward, saith the LORD of hosts. %%% Mmugolokosezza mu butuukirivu, era ndigolola amakubo ge gonna: alizimba ekibuga kyange, era aliteera ddala abange abaagobebwa, si lwa muwendo so si lwa mpeera, bw'ayogera Mukama ow'eggye. 23ISA045.014 Thus saith the LORD, The labour of Egypt, and merchandise of Ethiopia and of the Sabeans, men of stature, shall come over unto thee, and they shall be thine: they shall come after thee; in chains they shall come over, and they shall fall down unto thee, they shall make supplication unto thee, saying, Surely God is in thee; and there is none else, there is no God. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Omulimu gw'e Misiri n'obuguzi bw'e Kuusi n'Abasabeya, abasajja abawanvu, balikusenga ne baba babo; balikugoberera; nga bali mu masamba balisenga: era balikuvuunamira balikwegayirira nga boogera nti Mazima Katonda ali mu ggwe; so tewali mulala, tewali Katonda. 23ISA045.015 Verily thou art a God that hidest thyself, O God of Israel, the Saviour. %%% Mazima ggwe Katonda eyeekweka, ggwe Katonda wa Isiraeri, Omulokozi. 23ISA045.016 They shall be ashamed, and also confounded, all of them: they shall go to confusion together that are makers of idols. %%% Balikwatibwa ensonyi, weewaawo, baliswala, bonna: baligendera wamu mu kuswala abakola ebifaananyi. 23ISA045.017 But Israel shall be saved in the LORD with an everlasting salvation: ye shall not be ashamed nor confounded world without end. %%% Naye Isiraeri alirokolebwa Mukama n'obulokozi obutaliggwaawo: temuukwatibwenga nsonyi temuuswalenga emirembe n'emirembe. 23ISA045.018 For thus saith the LORD that created the heavens; God himself that formed the earth and made it; he hath established it, he created it not in vain, he formed it to be inhabited: I am the LORD; and there is none else. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda; eyabumba ensi n'agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala. 23ISA045.019 I have not spoken in secret, in a dark place of the earth: I said not unto the seed of Jacob, Seek ye me in vain: I the LORD speak righteousness, I declare things that are right. %%% Soogereranga mu kyama, mu kifo eky'omu nsi ey'ekizikiza; sigambanga zzadde lya Yakobo nti Munnoonyeze bwereere: nze Mukama njogera butuukirivu, mbuulira ebigambo bya nsonga. 23ISA045.020 Assemble yourselves and come; draw near together, ye that are escaped of the nations: they have no knowledge that set up the wood of their graven image, and pray unto a god that cannot save. %%% Mwekuŋŋaanye mujje; musembere wamu, mmwe abawonye ku mawanga: tebalina magezi abasitula omuti ogw'ekifaananyi kyabwe ekyole ne beegayirira katonda atayinza kulokola. 23ISA045.021 Tell ye, and bring them near; yea, let them take counsel together: who hath declared this from ancient time? who hath told it from that time? have not I the LORD? and there is no God else beside me; a just God and a Saviour; there is none beside me. %%% Mubuulire mwolese; weewaawo, bateese wamu: ani eyalanga ekyo okuva mu biro eby'edda? ani eyakibuulira okuva edda? si nze Mukama? so tewali Katonda mulala wabula nze; Katonda omutuukirivu era omulokozi; tewali mulala wabula nze. 23ISA045.022 Look unto me, and be ye saved, all the ends of the earth: for I am God, and there is none else. %%% Mutunuulire nze, mulokoke, mmwe enkomerero zonna ez'ensi: kubanga nze Katonda so tewali mulala. 23ISA045.023 I have sworn by myself, the word is gone out of my mouth in righteousness, and shall not return, That unto me every knee shall bow, every tongue shall swear. %%% Neerayidde mwene, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu butuukirivu so tekirikomawo, nga nze buli vviivi lirinfukaamirira, buli lulimi lulirayira nze. 23ISA045.024 Surely, shall one say, in the LORD have I righteousness and strength: even to him shall men come; and all that are incensed against him shall be ashamed. %%% Walibaawo aliŋŋamba nti mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi: eri oyo abantu gye balijja, n'abo bonna abaamusunguwalira balikwatibwa ensonyi. 23ISA045.025 In the LORD shall all the seed of Israel be justified, and shall glory. %%% Mu Mukama ezzadde lyonna erya Isiraeri mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza. 23ISA046.001 Bel boweth down, Nebo stoopeth, their idols were upon the beasts, and upon the cattle: your carriages were heavy loaden; they are a burden to the weary beast. %%% Beri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi biri ku nsolo ne ku bisolo: ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, omutwalo eri ensolo ekooye. 23ISA046.002 They stoop, they bow down together; they could not deliver the burden, but themselves are gone into captivity. %%% Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa. 23ISA046.003 Hearken unto me, O house of Jacob, and all the remnant of the house of Israel, which are borne by me from the belly, which are carried from the womb: %%% Mumpulire ggwe ennyumba ya Yakobo, n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga nze okuva mu lubuto, be nnasitulanga okuva munda: 23ISA046.004 And even to your old age I am he; and even to hoar hairs will I carry you: I have made, and I will bear; even I will carry, and will deliver you. %%% n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n'okutuusa ku nvi naabasitulanga: nze nakola era nze naaweekanga: weewaawo, naasitulanga era naawonyanga. 23ISA046.005 To whom will ye liken me, and make me equal, and compare me, that we may be like? %%% Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingererako tufaanane? 23ISA046.006 They lavish gold out of the bag, and weigh silver in the balance, and hire a goldsmith; and he maketh it a god: they fall down, yea, they worship. %%% Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, weewaawo, basinza. 23ISA046.007 They bear him upon the shoulder, they carry him, and set him in his place, and he standeth; from his place shall he not remove: yea, one shall cry unto him, yet can he not answer, nor save him out of his trouble. %%% Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira; mu kifo kye talisegukawo: weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ze. 23ISA046.008 Remember this, and shew yourselves men: bring it again to mind, O ye transgressors. %%% Mujjukire ekyo, mwerage obusajja: mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi. 23ISA046.009 Remember the former things of old: for I am God, and there is none else; I am God, and there is none like me, %%% Mujjukire ebigambo ebyasooka eby'edda: kubanga nze Katonda so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana; 23ISA046.010 Declaring the end from the beginning, and from ancient times the things that are not yet done, saying, My counsel shall stand, and I will do all my pleasure: %%% alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna: 23ISA046.011 Calling a ravenous bird from the east, the man that executeth my counsel from a far country: yea, I have spoken it, I will also bring it to pass; I have purposed it, I will also do it. %%% ayita ennyonyi ey'amaddu akuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, nayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; nateesa, n'okukola ndikikola. 23ISA046.012 Hearken unto me, ye stouthearted, that are far from righteousness: %%% Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu: 23ISA046.013 I bring near my righteousness; it shall not be far off, and my salvation shall not tarry: and I will place salvation in Zion for Israel my glory. %%% nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala n'obulokozi bwange tebulirwawo era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange. 23ISA047.001 Come down, and sit in the dust, O virgin daughter of Babylon, sit on the ground: there is no throne, O daughter of the Chaldeans: for thou shalt no more be called tender and delicate. %%% Serengeta otuule mu nfuufu ggwe omuwala wa Babulooni atamanyi musajja; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga nyanyali era mwekanasi. 23ISA047.002 Take the millstones, and grind meal: uncover thy locks, make bare the leg, uncover the thigh, pass over the rivers. %%% Ddira emmengo ose obutta: bikkula ku maaso, ggyako ekirenge, bikkula ku kugulu, oyite mu migga. 23ISA047.003 Thy nakedness shall be uncovered, yea, thy shame shall be seen: I will take vengeance, and I will not meet thee as a man. %%% Obwereere bwo bulibikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika: ndiwalana eggwanga so sirikkiriza muntu yenna. 23ISA047.004 As for our redeemer, the LORD of hosts is his name, the Holy One of Israel. %%% Omununuzi waffe, Mukama ow'egge lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri. 23ISA047.005 Sit thou silent, and get thee into darkness, O daughter of the Chaldeans: for thou shalt no more be called, The lady of kingdoms. %%% Tuula ng'osirise, weegendere mu kizikiza, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka. 23ISA047.006 I was wroth with my people, I have polluted mine inheritance, and given them into thine hand: thou didst shew them no mercy; upon the ancient hast thou very heavily laid thy yoke. %%% Nasunguwalira abantu bange, navumisa obusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo: tewabasaasira n'akamu; ku bakadde obataddeko ekikoligo kyo kizito nnyo. 23ISA047.007 And thou saidst, I shall be a lady for ever: so that thou didst not lay these things to thy heart, neither didst remember the latter end of it. %%% N'oyogera nti Naabanga mukyala ennaku zonna: ebyo n'otobissa ku mwoyo so tewajjukira nkomerero yaabyo ya luvannyuma. 23ISA047.008 Therefore hear now this, thou that art given to pleasures, that dwellest carelessly, that sayest in thine heart, I am, and none else beside me; I shall not sit as a widow, neither shall I know the loss of children: %%% Kale nno kaakano wulira kino, ggwe aweereddwa ejjaliri okwesiima, atuula ng'osiita, ayogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, so sirimanya kufiirwa baana: 23ISA047.009 But these two things shall come to thee in a moment in one day, the loss of children, and widowhood: they shall come upon thee in their perfection for the multitude of thy sorceries, and for the great abundance of thine enchantments. %%% naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana ne bunnamwandu: birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi. 23ISA047.010 For thou hast trusted in thy wickedness: thou hast said, None seeth me. Thy wisdom and thy knowledge, it hath perverted thee; and thou hast said in thine heart, I am, and none else beside me. %%% Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti Siriiko andaba; amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza: n'oyogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze. 23ISA047.011 Therefore shall evil come upon thee; thou shalt not know from whence it riseth: and mischief shall fall upon thee; thou shalt not be able to put it off: and desolation shall come upon thee suddenly, which thou shalt not know. %%% Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya mmambya yaabwo: n'akataali kalikugwako; toliyinza kukaggyawo: n'okuzika kulikujjako mangu ago kw'otomanyiridde. 23ISA047.012 Stand now with thine enchantments, and with the multitude of thy sorceries, wherein thou hast laboured from thy youth; if so be thou shalt be able to profit, if so be thou mayest prevail. %%% Yimirira nno n'obusawo bwo n'obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola. 23ISA047.013 Thou art wearied in the multitude of thy counsels. Let now the astrologers, the stargazers, the monthly prognosticators, stand up, and save thee from these things that shall come upon thee. %%% Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza: abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby'emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako. 23ISA047.014 Behold, they shall be as stubble; the fire shall burn them; they shall not deliver themselves from the power of the flame: there shall not be a coal to warm at, nor fire to sit before it. %%% Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro: teguliba lyanda lya kwota, newakubadde kyoto eky'okutuulako. 23ISA047.015 Thus shall they be unto thee with whom thou hast laboured, even thy merchants, from thy youth: they shall wander every one to his quarter; none shall save thee. %%% Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga: abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola. 23ISA048.001 Hear ye this, O house of Jacob, which are called by the name of Israel, and are come forth out of the waters of Judah, which swear by the name of the LORD, and make mention of the God of Israel, but not in truth, nor in righteousness. %%% Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri era abavudde mu mazzi ga Yuda; abalayira erinnya lya Mukama, era aboogera ku Katonda wa Isiraeri, naye si mu mazima so si mu butuukirivu. 23ISA048.002 For they call themselves of the holy city, and stay themselves upon the God of Israel; The LORD of hosts is his name. %%% Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu, era beesigama ku Katonda wa Isiraeri; Mukama ow'eggye lye linnya lye. 23ISA048.003 I have declared the former things from the beginning; and they went forth out of my mouth, and I shewed them; I did them suddenly, and they came to pass. %%% Nabuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo, byava mu kamwa kange ne mbiranga: nabikola mangu ne bituukirira. 23ISA048.004 Because I knew that thou art obstinate, and thy neck is an iron sinew, and thy brow brass; %%% Kubanga namanya ng'oli mukakanyavu, n'ensingo yo kinywa kya kyuma, n'ekyenyi kyo kikomo; 23ISA048.005 I have even from the beginning declared it to thee; before it came to pass I shewed it thee: lest thou shouldest say, Mine idol hath done them, and my graven image, and my molten image, hath commanded them. %%% kyennava nkikubuulira okuva edda; nga tekinnatuukirira nakiranga gy'oli: olemenga okwogera nti Ekifaananyi kyange kye kibikoze, n'ekifaananyi kyange ekyole n'ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde. 23ISA048.006 Thou hast heard, see all this; and will not ye declare it? I have shewed thee new things from this time, even hidden things, and thou didst not know them. %%% Wakiwulira; laba bino byonna; nammwe temulikibuulira? Nkulaze ebigambo ebiggya okuva mu biro bino, ebigambo ebyakwekebwa, by'otomanyanga. 23ISA048.007 They are created now, and not from the beginning; even before the day when thou heardest them not; lest thou shouldest say, Behold, I knew them. %%% Bitondeddwa kaakano so si kuva dda; eka okusooka olwa leero tobiwuliranga; olemenga okwogera nti Laba, nnali mbimanyi. 23ISA048.008 Yea, thou heardest not; yea, thou knewest not; yea, from that time that thine ear was not opened: for I knew that thou wouldest deal very treacherously, and wast called a transgressor from the womb. %%% Weewaawo, towuliranga; weewaawo, tomanyanga; weewaawo, obw'edda bwonna okutu kwo tekuggukanga: kubanga namanya nga walyazaamaanya nnyo, era wayitibwa musobya okuva mu lubuto. 23ISA048.009 For my name's sake will I defer mine anger, and for my praise will I refrain for thee, that I cut thee not off. %%% Olw'erinnya lyange ndyosaawo obusungu bwange, n'olw'ettendo lyange ndizibiikiriza gy'oli nneme okukuzikiriza. 23ISA048.010 Behold, I have refined thee, but not with silver; I have chosen thee in the furnace of affliction. %%% Laba, nkulongoosezza naye si nga ffeeza; nkulondedde mu kikoomi kwe kubonyaabonyezebwa. 23ISA048.011 For mine own sake, even for mine own sake, will I do it: for how should my name be polluted? and I will not give my glory unto another. %%% Ku lwange nze, ku lwange nze kyendiva nkikola; kubanga erinnya lyange bandirivumye batya? n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala: 23ISA048.012 Hearken unto me, O Jacob and Israel, my called; I am he; I am the first, I also am the last. %%% Mpuliriza, ggwe Yakobo, ne Isiraeri gwe nnayita: nze nzuuyo; nze w'olubereberye, era nze w'enkomerero. 23ISA048.013 Mine hand also hath laid the foundation of the earth, and my right hand hath spanned the heavens: when I call unto them, they stand up together. %%% Weewaawo, omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw'ensi, n'omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu: bwe mbiyita ne biyimirira wamu. 23ISA048.014 All ye, assemble yourselves, and hear; which among them hath declared these things? The LORD hath loved him: he will do his pleasure on Babylon, and his arm shall be on the Chaldeans. %%% Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire; ani ku bo eyali abuulidde ebyo? Mukama yamwagala: alikola Babulooni by'ayagala, n'omukono gwe guliba ku Bakaludaaya. 23ISA048.015 I, even I, have spoken; yea, I have called him: I have brought him, and he shall make his way prosperous. %%% Nze, nze mwene, njogedde; weewaawo, mmuyimuse; mmuleese, era olugendo lwe alirulabisa omukisa. 23ISA048.016 Come ye near unto me, hear ye this; I have not spoken in secret from the beginning; from the time that it was, there am I: and now the Lord GOD, and his Spirit, hath sent me. %%% Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye soogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi: era kaakano Mukama Katonda antumye n'omwoyo gwe. 23ISA048.017 Thus saith the LORD, thy Redeemer, the Holy One of Israel; I am the LORD thy God which teacheth thee to profit, which leadeth thee by the way that thou shouldest go. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu. 23ISA048.018 O that thou hadst hearkened to my commandments! then had thy peace been as a river, and thy righteousness as the waves of the sea: %%% Singa wawulira amateeka gange! kale emirembe gyo gyandibadde ng'omugga, n'obutuukirivu bwo ng'amayengo g'ennyanja: 23ISA048.019 Thy seed also had been as the sand, and the offspring of thy bowels like the gravel thereof; his name should not have been cut off nor destroyed from before me. %%% era n'ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, n'ab'enda yo ng'empeke zaagwo: erinnya lye teryandisanguliddwa so teryandizikiridde mu maaso gange. 23ISA048.020 Go ye forth of Babylon, flee ye from the Chaldeans, with a voice of singing declare ye, tell this, utter it even to the end of the earth; say ye, The LORD hath redeemed his servant Jacob. %%% Mufulume mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya; mubuulire mwogere kino mukirange n'okutuusa enkomerero y'ensi n'eddoboozi ery'okuyimba: mwogere nti Mukama anunudde omuweereza we Yakobo. 23ISA048.021 And they thirsted not when he led them through the deserts: he caused the waters to flow out of the rock for them: he clave the rock also, and the waters gushed out. %%% So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu: yabakulukusiza amazzi mu lwazi: era yayasa n'olwazi, amazzi ne gatiiriika. 23ISA048.022 There is no peace, saith the LORD, unto the wicked. %%% Tewali mirembe eri ababi, bw'ayogera Mukama. 23ISA049.001 Listen, O isles, unto me; and hearken, ye people, from far; The LORD hath called me from the womb; from the bowels of my mother hath he made mention of my name. %%% Mumpulirize, mmwe ebizinga; era mutege amatu, mmwe amawanga, nga muyima wala: Mukama yampita okuva mu lubuto; okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange: 23ISA049.002 And he hath made my mouth like a sharp sword; in the shadow of his hand hath he hid me, and made me a polished shaft; in his quiver hath he hid me; %%% era akamwa kange akafaananyizza ng'ekitala eky'obwogi, mu kisiikirize ky'omukono gwe mw'ankwese; era anfudde akasaale akazigule, mu mufuko gwe mw'ankuumidde ddala; 23ISA049.003 And said unto me, Thou art my servant, O Israel, in whom I will be glorified. %%% era yaŋŋamba nti Ggwe muweereza wange; Isiraeri gwe ndiweerwamu ekitiibwa. 23ISA049.004 Then I said, I have laboured in vain, I have spent my strength for nought, and in vain: yet surely my judgment is with the LORD, and my work with my God. %%% Naye ne njogera nti Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa, naye mazima omusango gwange guli ne Mukama, n'empeera yange eri ne Katonda wange. 23ISA049.005 And now, saith the LORD that formed me from the womb to be his servant, to bring Jacob again to him, Though Israel be not gathered, yet shall I be glorious in the eyes of the LORD, and my God shall be my strength. %%% Era kaakano ayogera Mukama eyammumba okuva mu lubuto okuba omuweereza we, okumukomezaawo nate Yakobo era Isiraeri akuŋŋaanyizibwe gy'ali: (kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama, era Katonda wange afuuse amaanyi gange:) 23ISA049.006 And he said, It is a light thing that thou shouldest be my servant to raise up the tribes of Jacob, and to restore the preserved of Israel: I will also give thee for a light to the Gentiles, that thou mayest be my salvation unto the end of the earth. %%% weewaawo, ayogera nti Ekigambo kyayinga obwangu ggwe okuba omuweereza wange okugolokosa ebika bya Yakobo n'okulokola abawonye ku Isiraeri: era ndikuwaayo okuba omusana eri ab'amawaaga, obeerenga obulokozi bwange okutuusa ku nkomerero y'ensi. 23ISA049.007 Thus saith the LORD, the Redeemer of Israel, and his Holy One, to him whom man despiseth, to him whom the nation abhorreth, to a servant of rulers, Kings shall see and arise, princes also shall worship, because of the LORD that is faithful, and the Holy One of Israel, and he shall choose thee. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wa Isiraeri, era Omutukuvu we, ng'agamba oyo abantu gwe banyooma, oyo eggwanga gwe likyawa, omuweereza w'abafuga, nti Bakabaka baliraba ne bagolokoka; abalangira baligolokoka ne basinza; ku lwa Mukama omwesigwa, Omutukuvu wa Isiraeri eyakulonda. 23ISA049.008 Thus saith the LORD, In an acceptable time have I heard thee, and in a day of salvation have I helped thee: and I will preserve thee, and give thee for a covenant of the people, to establish the earth, to cause to inherit the desolate heritages; %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkwanukulidde mu biro eby'okukkirizibwamu, era nkuyambye ku lunaku olw'okulokokeramu: era ndikuwonya ne nkuwaayo okuba endagaano eri abantu, okugolokosa ensi, okubasisa obusika obwazika: 23ISA049.009 That thou mayest say to the prisoners, Go forth; to them that are in darkness, Shew yourselves. They shall feed in the ways, and their pastures shall be in all high places. %%% ng'obuulira abo abasibiddwa nti Mufulume; abo abali mu kizikiza nti Mwerage. Banaaliiranga mu makubo, ne ku nsozi zonna ez'obweru kwe kunaabanga amalundiro gaabwe. 23ISA049.010 They shall not hunger nor thirst; neither shall the heat nor sun smite them: for he that hath mercy on them shall lead them, even by the springs of water shall he guide them. %%% Tebaalumwenga njala newakubadde ennyonta; so n'olubugumu teruubakwatenga newakubadde omusana: kubanga oyo abasaasira anaabakulemberanga era awali enzizi z'amazzi gy'anaabatwalanga. 23ISA049.011 And I will make all my mountains a way, and my highways shall be exalted. %%% Era ndifuula ensozi zange zonna okuba ekkubo, n'enguudo zange zirigulumizibwa. 23ISA049.012 Behold, these shall come from far: and, lo, these from the north and from the west; and these from the land of Sinim. %%% Laba, bano baliva wala: era, laba, bano baliva obukiika obwa kkono n'ebugwanjuba; era bano mu nsi y'e Sinimu. 23ISA049.013 Sing, O heavens; and be joyful, O earth; and break forth into singing, O mountains: for the LORD hath comforted his people, and will have mercy upon his afflicted. %%% Yimba, ggwe eggulu; era sanyuka, ggwe ensi; era mubaguke okuyimba, mmwe ensozi: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, era alisaasira ababe ababonyaabonyezebwa. 23ISA049.014 But Zion said, The LORD hath forsaken me, and my Lord hath forgotten me. %%% Naye Sayuuni n’ayogera nti Mukama andese, era Mukama anneerabidde. 23ISA049.015 Can a woman forget her sucking child, that she should not have compassion on the son of her womb? yea, they may forget, yet will I not forget thee. %%% Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye? weewaawo, abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe. 23ISA049.016 Behold, I have graven thee upon the palms of my hands; thy walls are continually before me. %%% Laba, nkuyoze ku bibatu by'emikono gyange; ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo. 23ISA049.017 Thy children shall make haste; thy destroyers and they that made thee waste shall go forth of thee. %%% Abaana bo baanguwa; abaakuzikiriza n'abaakuzisa balikuvaamu. 23ISA049.018 Lift up thine eyes round about, and behold: all these gather themselves together, and come to thee. As I live, saith the LORD, thou shalt surely clothe thee with them all, as with an ornament, and bind them on thee, as a bride doeth. %%% Yimusa amaaso go enjuyi zonna olabe: abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tolirema kubambala bonna ng'eky'obuyonjo, n'obeesiba ng'omugole. 23ISA049.019 For thy waste and thy desolate places, and the land of thy destruction, shall even now be too narrow by reason of the inhabitants, and they that swallowed thee up shall be far away. %%% Kubanga ebifo byo ebyazika ebyalekebwawo n'ensi yo eyazikirizibwa, mazima kaakano olibayingirira obufunda abatuulamu, n'abo abaakulyanga baliba wala. 23ISA049.020 The children which thou shalt have, after thou hast lost the other, shall say again in thine ears, The place is too strait for me: give place to me that I may dwell. %%% Abaana ab'okufiirwa kwo balyogerera mu matu go nti Ekifo kinnyingiridde obufunda: mpa ebbanga ntuule. 23ISA049.021 Then shalt thou say in thine heart, Who hath begotten me these, seeing I have lost my children, and am desolate, a captive, and removing to and fro? and who hath brought up these? Behold, I was left alone; these, where had they been? %%% N'olyoka oyogerera mu mutima gwo nti Ani eyanzaalira bano, kubanga nafiirwa abaana bange, era ndi omu, eyagobebwa, era abulubuutira eruuyi n'eruuyi? era ani eyalera bano? Laba, nasigala omu; bano, baali bali ludda wa? 23ISA049.022 Thus saith the Lord GOD, Behold, I will lift up mine hand to the Gentiles, and set up my standard to the people: and they shall bring thy sons in their arms, and thy daughters shall be carried upon their shoulders. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigololera amawanga omukono gwange, ne nsimbira abantu ebendera yange: awo balireeta batabani bo mu kifuba kyabwe, ne bawala bo balikongojjerwa ku bibegabega byabwe. 23ISA049.023 And kings shall be thy nursing fathers, and their queens thy nursing mothers: they shall bow down to thee with their face toward the earth, and lick up the dust of thy feet; and thou shalt know that I am the LORD: for they shall not be ashamed that wait for me. %%% Era bakabaka baliba bakitaawo abalera, ne bakaddulubaale baabwe baliba bannyoko abayonsa: balikuvuunamira n'amaaso gaabwe, ne bakomba enfuufu ey'omu bigere byo; kale olimanya nga ndi Mukama, n'abo abannindirira tebalikwatibwa nsonyi. 23ISA049.024 Shall the prey be taken from the mighty, or the lawful captive delivered? %%% Omunyago guliggibwa ku b'amaanyi, oba abawambibwa olw'ensonga baliteebwa? 23ISA049.025 But thus saith the LORD, Even the captives of the mighty shall be taken away, and the prey of the terrible shall be delivered: for I will contend with him that contendeth with thee, and I will save thy children. %%% Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama nti N'abo ab'amaanyi be baawamba baliggibwawo, n'omunyago gw'ab'entiisa guliteebwa: kubanga ndiyomba n'oyo ayomba naawe, era ndirokola abaana bo. 23ISA049.026 And I will feed them that oppress thee with their own flesh; and they shall be drunken with their own blood, as with sweet wine: and all flesh shall know that I the LORD am thy Saviour and thy Redeemer, the mighty One of Jacob. %%% Era abo abakujooga ndibaliisa ennyama yaabwe bo; era balitamiira omusaayi gwabwe bo, nga n'omwenge omuwoomerevu: n'abalina omubiri bonna balimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo, era omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo. 23ISA050.001 Thus saith the LORD, Where is the bill of your mother's divorcement, whom I have put away? or which of my creditors is it to whom I have sold you? Behold, for your iniquities have ye sold yourselves, and for your transgressions is your mother put away. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe eri ludda wa gye nnamugobya? oba aluwa ku abo abammanja gwe nnabaguza? Laba, olw'obutali butuukirivu bwammwe kyemwava mutundibwa, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe. 23ISA050.002 Wherefore, when I came, was there no man? when I called, was there none to answer? Is my hand shortened at all, that it cannot redeem? or have I no power to deliver? behold, at my rebuke I dry up the sea, I make the rivers a wilderness: their fish stinketh, because there is no water, and dieth for thirst. %%% Bwe nnajja, kyewava walema okubaawo omuntu ki? bwe nnayita, tewaali eyandiyitabye? Omukono gwange guyimpawadde ne gutayinza n'akatono kununula? oba sirina maanyi n'akatono ga kuwonya? Laba, olw'okunenya kwange nkaliza ennyanja; emigga ngifuula eddungu: ebyennyanja byamu ne biwunya, obutabaawo mazzi, ne bifa ennyonta. 23ISA050.003 I clothe the heavens with blackness, and I make sackcloth their covering. %%% Nnyambaza eggulu obuddugavu, era ndibikkako ebibukutu. 23ISA050.004 The Lord GOD hath given me the tongue of the learned, that I should know how to speak a word in season to him that is weary: he wakeneth morning by morning, he wakeneth mine ear to hear as the learned. %%% Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya; azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa. 23ISA050.005 The Lord GOD hath opened mine ear, and I was not rebellious, neither turned away back. %%% Mukama Katonda aggudde okutu kwange, ne ssiba mujeemu ne ssikyuka kudda nnyuma. 23ISA050.006 I gave my back to the smiters, and my cheeks to them that plucked off the hair: I hid not my face from shame and spitting. %%% Nawaayo amabega gange eri abakuba, n'amatama gange eri abo abakuunyuula enviiri: saakweka maaso gange nsonyi na kuwanda malusu. 23ISA050.007 For the Lord GOD will help me; therefore shall I not be confounded: therefore have I set my face like a flint, and I know that I shall not be ashamed. %%% Kubanga Mukama Katonda alinnyamba; kyennava nnema okuswala: kyenvudde nteeka amaaso gange ng'ejjinja ery'embaalebaale, era mmanyi nga sirikwatibwa nsonyi. 23ISA050.008 He is near that justifieth me; who will contend with me? let us stand together: who is mine adversary? let him come near to me. %%% Ali kumpi ampeesa obutuukirivu; ani aliyomba nange? tuyimirire fembi; omulabe wange ye ani? ansemberere. 23ISA050.009 Behold, the Lord GOD will help me; who is he that shall condemn me? lo, they all shall wax old as a garment; the moth shall eat them up. %%% Laba, Mukama Katonda ye alinnyamba; ani oyo alinsalira omusango? laba, bonna balikaddiwa ng'ekyambalo; ennyenje eribaliira ddala. 23ISA050.010 Who is among you that feareth the LORD, that obeyeth the voice of his servant, that walketh in darkness, and hath no light? let him trust in the name of the LORD, and stay upon his God. %%% Ani ku mmwe atya Mukama; agondera eddoboozi ly'omuweereza we? atambulira mu kizikiza, nga talina musana, yeesige erinnya lya Mukama, era yeesigame ku Katonda we. 23ISA050.011 Behold, all ye that kindle a fire, that compass yourselves about with sparks: walk in the light of your fire, and in the sparks that ye have kindled. This shall ye have of mine hand; ye shall lie down in sorrow. %%% Laba, mmwe mwenna abakuma omuliro, abeesiba emimuli enjuyi zonna: mutambulire mu nnimi z'omuliro gwammwe, ne mu mimuli gye mukoleezezza, Ekyo kye muliweebwa mu mukono gwange; muligalamira nga munakuwadde. 23ISA051.001 Hearken to me, ye that follow after righteousness, ye that seek the LORD: look unto the rock whence ye are hewn, and to the hole of the pit whence ye are digged. %%% Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n'obunnya bw'obuya bwe mwasimibwamu. 23ISA051.002 Look unto Abraham your father, and unto Sarah that bare you: for I called him alone, and blessed him, and increased him. %%% Tunuulira Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala: kubanga bwe yali ali omu yekka ne mmuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza. 23ISA051.003 For the LORD shall comfort Zion: he will comfort all her waste places; and he will make her wilderness like Eden, and her desert like the garden of the LORD; joy and gladness shall be found therein, thanksgiving, and the voice of melody. %%% Kubanga Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika n'afuula olukoola lwe okuba nga Adeni n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okujaguza birirabika omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba. 23ISA051.004 Hearken unto me, my people; and give ear unto me, O my nation: for a law shall proceed from me, and I will make my judgment to rest for a light of the people. %%% Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange: kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, era ndibeesaawo omusango gwange okuba omusana eri amawanga. 23ISA051.005 My righteousness is near; my salvation is gone forth, and mine arms shall judge the people; the isles shall wait upon me, and on mine arm shall they trust. %%% Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n'emikono gyange girisalira amawanga emisango; ebizinga birinnindirira, n'omukono gwange gwe biryesiga. %%% Lift up your eyes to the heavens, and look upon the earth beneath: for the heavens shall vanish away like smoke, and the earth shall wax old like a garment, and they that dwell therein shall die in like manner: but my salvation shall be for ever, and my righteousness shall not be abolished. 23ISA051.006 Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi: kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abo abagituulamu balifa bwe batyo: naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga. 23ISA051.007 Hearken unto me, ye that know righteousness, the people in whose heart is my law; fear ye not the reproach of men, neither be ye afraid of their revilings. %%% Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kwa bantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe. 23ISA051.008 For the moth shall eat them up like a garment, and the worm shall eat them like wool: but my righteousness shall be for ever, and my salvation from generation to generation. %%% Kubanga ennyenje eribaliira ddala ng'ekyambalo, n'enkuyege eribalya ng'ebyoya by'endiga: naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna. 23ISA051.009 Awake, awake, put on strength, O arm of the LORD; awake, as in the ancient days, in the generations of old. Art thou not it that hath cut Rahab, and wounded the dragon? %%% Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi, ggwe omukono gwa Mukama; zuukuka nga mu nnaku ez'edda, mu mirembe egy'ebiro eby'edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatema Lakabu, eyafumita ogusota? 23ISA051.010 Art thou not it which hath dried the sea, the waters of the great deep; that hath made the depths of the sea a way for the ransomed to pass over? %%% Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag'obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusomokeramu? 23ISA051.011 Therefore the redeemed of the LORD shall return, and come with singing unto Zion; and everlasting joy shall be upon their head: they shall obtain gladness and joy; and sorrow and mourning shall flee away. %%% N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuumi n'okuyimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala. 23ISA051.012 I, even I, am he that comforteth you: who art thou, that thou shouldest be afraid of a man that shall die, and of the son of man which shall be made as grass; %%% Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa: ggwe ani n'okutya n'otya omuntu alifa, n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo; 23ISA051.013 And forgettest the LORD thy maker, that hath stretched forth the heavens, and laid the foundations of the earth; and hast feared continually every day because of the fury of the oppressor, as if he were ready to destroy? and where is the fury of the oppressor? %%% ne weerabira Mukama Omukozi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi? 23ISA051.014 The captive exile hasteneth that he may be loosed, and that he should not die in the pit, nor that his bread should fail. %%% Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa n'akka mu bunnya, so n'emmere ye teribula. 23ISA051.015 But I am the LORD thy God, that divided the sea, whose waves roared: The LORD of hosts is his name. %%% Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma: Mukama ow'eggye lye linnya lye. 23ISA051.016 And I have put my words in thy mouth, and I have covered thee in the shadow of mine hand, that I may plant the heavens, and lay the foundations of the earth, and say unto Zion, Thou art my people. %%% Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisseeko mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne ŋŋamba Sayuuni nti Ggwe bantu bange. 23ISA051.017 Awake, awake, stand up, O Jerusalem, which hast drunk at the hand of the LORD the cup of his fury; thou hast drunken the dregs of the cup of trembling, and wrung them out. %%% Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obukaali bwe wanywa ku kibya eky'ekikompe eky'okutagatta n'okikutankira. 23ISA051.018 There is none to guide her among all the sons whom she hath brought forth; neither is there any that taketh her by the hand of all the sons that she hath brought up. %%% Ku baana bonna be yazaala tekuli wa kumukulembera; so tekuli amukwata ku mukono ku baana bonna be yalera. 23ISA051.019 These two things are come unto thee; who shall be sorry for thee? desolation, and destruction, and the famine, and the sword: by whom shall I comfort thee? %%% Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; n'akusanyusa ntya? 23ISA051.020 Thy sons have fainted, they lie at the head of all the streets, as a wild bull in a net: they are full of the fury of the LORD, the rebuke of thy God. %%% Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; bajjudde obukaali bwa Mukama, okunenya kwa Katonda wo. 23ISA051.021 Therefore hear now this, thou afflicted, and drunken, but not with wine: %%% Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, era atamidde naye si na mwenge: 23ISA051.022 Thus saith thy Lord the LORD, and thy God that pleadeth the cause of his people, Behold, I have taken out of thine hand the cup of trembling, even the dregs of the cup of my fury; thou shalt no more drink it again: %%% bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Mukama era Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nziye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kibya eky'ekikompe eky'obukaali bwange; tokyakinywangako lwa kubiri: 23ISA051.023 But I will put it into the hand of them that afflict thee; which have said to thy soul, Bow down, that we may go over: and thou hast laid thy body as the ground, and as the street, to them that went over. %%% era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaagamba obulamu bwo nti Kutama tuyiteko: naawe n'oteekawo amabega go ng'ettaka era ng'oluguudo eri abo abayitako. 23ISA052.001 Awake, awake; put on thy strength, O Zion; put on thy beautiful garments, O Jerusalem, the holy city: for henceforth there shall no more come into thee the uncircumcised and the unclean. %%% Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu. 23ISA052.002 Shake thyself from the dust; arise, and sit down, O Jerusalem: loose thyself from the bands of thy neck, O captive daughter of Zion. %%% Weekunkumule enfuufu; golokoka otuule wansi, ggwe Yerusaalemi: weesumulule enjegere ez'omu bulago bwo, ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa. 23ISA052.003 For thus saith the LORD, Ye have sold yourselves for nought; and ye shall be redeemed without money. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza. 23ISA052.004 For thus saith the Lord GOD, My people went down aforetime into Egypt to sojourn there; and the Assyrian oppressed them without cause. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo: Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere. 23ISA052.005 Now therefore, what have I here, saith the LORD, that my people is taken away for nought? they that rule over them make them to howl, saith the LORD; and my name continually every day is blasphemed. %%% Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma. 23ISA052.006 Therefore my people shall know my name: therefore they shall know in that day that I am he that doth speak: behold, it is I. %%% Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange: kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno. 23ISA052.007 How beautiful upon the mountains are the feet of him that bringeth good tidings, that publisheth peace; that bringeth good tidings of good, that publisheth salvation; that saith unto Zion, Thy God reigneth! %%% Nga birungi ku nsozi ebigere by'oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby'obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga! 23ISA052.008 Thy watchmen shall lift up the voice; with the voice together shall they sing: for they shall see eye to eye, when the LORD shall bring again Zion. %%% Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba eriiso n'eriiso, Mukama bw'alikomawo e Sayuuni. 23ISA052.009 Break forth into joy, sing together, ye waste places of Jerusalem: for the LORD hath comforted his people, he hath redeemed Jerusalem. %%% Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi. 23ISA052.010 The LORD hath made bare his holy arm in the eyes of all the nations; and all the ends of the earth shall see the salvation of our God. %%% Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe. 23ISA052.011 Depart ye, depart ye, go ye out from thence, touch no unclean thing; go ye out of the midst of her; be ye clean, that bear the vessels of the LORD. %%% Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama. 23ISA052.012 For ye shall not go out with haste, nor go by flight: for the LORD will go before you; and the God of Israel will be your rereward. %%% Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka: kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri ye alibasemba. 23ISA052.013 Behold, my servant shall deal prudently, he shall be exalted and extolled, and be very high. %%% Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo, 23ISA052.014 As many were astonied at thee; his visage was so marred more than any man, and his form more than the sons of men: %%% Ng'abangi bwe baakwewuunya, (amaaso ge gaayonooneka bwe gatyo okusinga omuntu yenna, n'embala ye okusinga abaana b'abantu,) 23ISA052.015 So shall he sprinkle many nations; the kings shall shut their mouths at him: for that which had not been told them shall they see; and that which they had not heard shall they consider. %%% bw'atyo bw'alimansira amawanga amangi; bakabaka balibuniza obumwa bwabwe gy'ali: kubanga kye batabuulirwanga balikiraba; ne kye batawuliranga balikitegeera. 23ISA053.001 Who hath believed our report? and to whom is the arm of the LORD revealed? %%% Ani akkiriza ebigambo byaffe: era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama? 23ISA053.002 For he shall grow up before him as a tender plant, and as a root out of a dry ground: he hath no form nor comeliness; and when we shall see him, there is no beauty that we should desire him. %%% Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa. 23ISA053.003 He is despised and rejected of men; a man of sorrows, and acquainted with grief: and we hid as it were our faces from him; he was despised, and we esteemed him not. %%% Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu. 23ISA053.004 Surely he hath borne our griefs, and carried our sorrows: yet we did esteem him stricken, smitten of God, and afflicted. %%% Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa. 23ISA053.005 But he was wounded for our transgressions, he was bruised for our iniquities: the chastisement of our peace was upon him; and with his stripes we are healed. %%% Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya. 23ISA053.006 All we like sheep have gone astray; we have turned every one to his own way; and the LORD hath laid on him the iniquity of us all. %%% Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna. 23ISA053.007 He was oppressed, and he was afflicted, yet he opened not his mouth: he is brought as a lamb to the slaughter, and as a sheep before her shearers is dumb, so he openeth not his mouth. %%% Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasama kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasama kamwa ke. 23ISA053.008 He was taken from prison and from judgment: and who shall declare his generation? for he was cut off out of the land of the living: for the transgression of my people was he stricken. %%% Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'eby'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange. 23ISA053.009 And he made his grave with the wicked, and with the rich in his death; because he had done no violence, neither was any deceit in his mouth. %%% Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga tagiranga kyejo, so nga temuli bukuusa mu kamwa ke. 23ISA053.010 Yet it pleased the LORD to bruise him; he hath put him to grief: when thou shalt make his soul an offering for sin, he shall see his seed, he shall prolong his days, and the pleasure of the LORD shall prosper in his hand. %%% Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe. 23ISA053.011 He shall see of the travail of his soul, and shall be satisfied: by his knowledge shall my righteous servant justify many; for he shall bear their iniquities. %%% Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala: olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe. 23ISA053.012 Therefore will I divide him a portion with the great, and he shall divide the spoil with the strong; because he hath poured out his soul unto death: and he was numbered with the transgressors; and he bare the sin of many, and made intercession for the transgressors. %%% Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'abakulu, era aligerekera omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abalirwa wamu n'abasobya: naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya. 23ISA054.001 Sing, O barren, thou that didst not bear; break forth into singing, and cry aloud, thou that didst not travail with child: for more are the children of the desolate than the children of the married wife, saith the LORD. %%% Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala: kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama. 23ISA054.002 Enlarge the place of thy tent, and let them stretch forth the curtains of thine habitations: spare not, lengthen thy cords, and strengthen thy stakes; %%% Gaziya ekifo eky'eweema yo, era babambe amagigi g'ennyumba zo; tokwata mpola: wanvuya emigwa gyo, onyweze enkondo zo. 23ISA054.003 For thou shalt break forth on the right hand and on the left; and thy seed shall inherit the Gentiles, and make the desolate cities to be inhabited. %%% Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono; n'ezzadde lyo lirirya amawanga, era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo. 23ISA054.004 Fear not; for thou shalt not be ashamed: neither be thou confounded; for thou shalt not be put to shame: for thou shalt forget the shame of thy youth, and shalt not remember the reproach of thy widowhood any more. %%% Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi: so toswala; kubanga ensonyi tezirikukwata: kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buto bwo, n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate. 23ISA054.005 For thy Maker is thine husband; the LORD of hosts is his name; and thy Redeemer the Holy One of Israel; The God of the whole earth shall he be called. %%% Kubanga Omutonzi wo ye balo; Mukama ow'eggye lye linnya lye: era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo; aliyitibwa Katonda wa nsi zonna. 23ISA054.006 For the LORD hath called thee as a woman forsaken and grieved in spirit, and a wife of youth, when thou wast refused, saith thy God. %%% Kubanga Mukama akuyise ng'omukazi eyalekebwayo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike, omukazi ow'omu buvubuka, bw'agobebwa, bw'ayogera Katonda wo. 23ISA054.007 For a small moment have I forsaken thee; but with great mercies will I gather thee. %%% Akaseera akatono nkuleseewo; naye ndikukuŋŋaanya n'okusaasira kungi. 23ISA054.008 In a little wrath I hid my face from thee for a moment; but with everlasting kindness will I have mercy on thee, saith the LORD thy Redeemer. %%% Obusungu obwanjaala nga bunkutte naakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo. 23ISA054.009 For this is as the waters of Noah unto me: for as I have sworn that the waters of Noah should no more go over the earth; so have I sworn that I would not be wroth with thee, nor rebuke thee. %%% Kubanga ekyo kiri ng'amazzi ga Nuuwagye ndi: kuba nga bwe nnalayira ng'amazzi ga Nuuwa tegakyayanjaala ku nsi bwe ntyo bwe nnalayira nga sirikusunguwalira so sirikunenya. 23ISA054.010 For the mountains shall depart, and the hills be removed; but my kindness shall not depart from thee, neither shall the covenant of my peace be removed, saith the LORD that hath mercy on thee. %%% Kubanga ensozi zirivaawo n'obusozi buliggibwawo; naye ekisa kyange tekirikuvaako so n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo, bw'ayogera Mukama akusaasira. 23ISA054.011 O thou afflicted, tossed with tempest, and not comforted, behold, I will lay thy stones with fair colours, and lay thy foundations with sapphires. %%% Ggwe abonyaabonyezebwa asuukundibwa n'omuyaga so tosanyusibwa, laba, nditeeka amayinja go mu mabala amalungi, ne nsimba emisingi gyo ne safiro. 23ISA054.012 And I will make thy windows of agates, and thy gates of carbuncles, and all thy borders of pleasant stones. %%% N'ebitikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu, n'enzigi zo ne kabunkulo, n'ensalo yo yonna n'amayinja agasanyusa. 23ISA054.013 And all thy children shall be taught of the LORD; and great shall be the peace of thy children. %%% N'abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n'emirembe gy'abaana bo giriba mingi. 23ISA054.014 In righteousness shalt thou be established: thou shalt be far from oppression; for thou shalt not fear: and from terror; for it shall not come near thee. %%% Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa: onoobanga wala n'okujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera. 23ISA054.015 Behold, they shall surely gather together, but not by me: whosoever shall gather together against thee shall fall for thy sake. %%% Laba, mpozzi balikuŋŋaana naye si nze ndibakuŋŋaanya: buli alikukuŋŋaanirako aligwa ku lulwo. 23ISA054.016 Behold, I have created the smith that bloweth the coals in the fire, and that bringeth forth an instrument for his work; and I have created the waster to destroy. %%% Laba, natonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe; era natonda n'omuzikiriza okufaafaaganya. 23ISA054.017 No weapon that is formed against thee shall prosper; and every tongue that shall rise against thee in judgment thou shalt condemn. This is the heritage of the servants of the LORD, and their righteousness is of me, saith the LORD. %%% Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw'abaddu ba Mukama n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama. 23ISA055.001 Ho, every one that thirsteth, come ye to the waters, and he that hath no money; come ye, buy, and eat; yea, come, buy wine and milk without money and without price. %%% Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n'oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje mugule omwenge n'amata awatali bigula awatali muwendo. 23ISA055.002 Wherefore do ye spend money for that which is not bread? and your labour for that which satisfieth not? hearken diligently unto me, and eat ye that which is good, and let your soul delight itself in fatness. %%% Lwaki okuwaayo ebigula olw'ebyo ebitali bya kulya? lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu. 23ISA055.003 Incline your ear, and come unto me: hear, and your soul shall live; and I will make an everlasting covenant with you, even the sure mercies of David. %%% Mutege amatu gammwe, mujje gye ndi; muwulire, n'obulamu bwammwe bunaaba bulamu: nange saalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw'enkalakkalira. 23ISA055.004 Behold, I have given him for a witness to the people, a leader and commander to the people. %%% Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga. 23ISA055.005 Behold, thou shalt call a nation that thou knowest not, and nations that knew not thee shall run unto thee because of the LORD thy God, and for the Holy One of Israel; for he hath glorified thee. %%% Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy'oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw'Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumizizza. 23ISA055.006 Seek ye the LORD while he may be found, call ye upon him while he is near: %%% Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi: 23ISA055.007 Let the wicked forsake his way, and the unrighteous man his thoughts: and let him return unto the LORD, and he will have mercy upon him; and to our God, for he will abundantly pardon. %%% omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo. 23ISA055.008 For my thoughts are not your thoughts, neither are your ways my ways, saith the LORD. %%% Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n'amakubo gammwe si makubo gange, bw'ayogera Mukama. 23ISA055.009 For as the heavens are higher than the earth, so are my ways higher than your ways, and my thoughts than your thoughts. %%% Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe. 23ISA055.010 For as the rain cometh down, and the snow from heaven, and returneth not thither, but watereth the earth, and maketh it bring forth and bud, that it may give seed to the sower, and bread to the eater: %%% Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli ebyokulya; 23ISA055.011 So shall my word be that goeth forth out of my mouth: it shall not return unto me void, but it shall accomplish that which I please, and it shall prosper in the thing whereto I sent it. %%% bwe kityo me kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omuisa mu ekyo kye nnakitumirira. 23ISA055.012 For ye shall go out with joy, and be led forth with peace: the mountains and the hills shall break forth before you into singing, and all the trees of the field shall clap their hands. %%% Kubanga mulifuluma n'essanyu, nulitwalibwa n'emirembe okuvaayo: ensozi n'obusozi ziribaguka okuyinba mu maaso gammwe, n'emiti yonna egy'oku ttale girikuba mu agalo. 23ISA055.013 Instead of the thorn shall come up the fir tree, and instead of the brier shall come up the myrtle tree: and it shall be to the LORD for a name, for an everlasting sign that shall not be cut off. %%% Mu kifo ky'omweramanyo mulimera olusambya, ne mu ifo ky'omutovu mulimera omumwanyi: era kiriba eri Mukama erinnya, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo. 23ISA056.001 Thus saith the LORD, Keep ye judgment, and do justice: for my salvation is near to come, and my righteousness to be revealed. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mukwatenga eby'ensonga, mukolenga eby'obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa. 23ISA056.002 Blessed is the man that doeth this, and the son of man that layeth hold on it; that keepeth the sabbath from polluting it, and keepeth his hand from doing any evil. %%% Alina omukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna. 23ISA056.003 Neither let the son of the stranger, that hath joined himself to the LORD, speak, saying, The LORD hath utterly separated me from his people: neither let the eunuch say, Behold, I am a dry tree. %%% So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti Mukama talirema kunjawula n'abantu be: so n'omulaawe tayogeranga nti Laba, ndi muti mukalu. 23ISA056.004 For thus saith the LORD unto the eunuchs that keep my sabbaths, and choose the things that please me, and take hold of my covenant; %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama w'abalaawe abakwata ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange. 23ISA056.005 Even unto them will I give in mine house and within my walls a place and a name better than of sons and of daughters: I will give them an everlasting name, that shall not be cut off. %%% nti Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba ne munda w'ebisenge byange; ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo. 23ISA056.006 Also the sons of the stranger, that join themselves to the LORD, to serve him, and to love the name of the LORD, to be his servants, every one that keepeth the sabbath from polluting it, and taketh hold of my covenant; %%% Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange; 23ISA056.007 Even them will I bring to my holy mountain, and make them joyful in my house of prayer: their burnt offerings and their sacrifices shall be accepted upon mine altar; for mine house shall be called an house of prayer for all people. %%% abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna. 23ISA056.008 The Lord GOD, which gathereth the outcasts of Israel saith, Yet will I gather others to him, beside those that are gathered unto him. %%% Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti Oliboolyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa. 23ISA056.009 All ye beasts of the field, come to devour, yea, all ye beasts in the forest. %%% Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira. 23ISA056.010 His watchmen are blind: they are all ignorant, they are all dumb dogs, they cannot bark; sleeping, lying down, loving to slumber. %%% Abakuumi be bazibe ba maaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; nga baloota, nga bagalamira, nga baagala okubongoota. 23ISA056.011 Yea, they are greedy dogs which can never have enough, and they are shepherds that cannot understand: they all look to their own way, every one for his gain, from his quarter. %%% Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna. 23ISA056.012 Come ye, say they, I will fetch wine, and we will fill ourselves with strong drink; and to morrow shall be as this day, and much more abundant. %%% Boogera nti Mujje, naakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n'olw'enkya luliba ng'olwa leero, olukulu olutenkanikika. 23ISA057.001 The righteous perisheth, and no man layeth it to heart: and merciful men are taken away, none considering that the righteous is taken away from the evil to come. %%% Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako omwoyo; n'abantu ab'ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja. 23ISA057.002 He shall enter into peace: they shall rest in their beds, each one walking in his uprightness. %%% Ayingira mu mirembe; bawummulira ku bitanda byabwe, buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe. 23ISA057.003 But draw near hither, ye sons of the sorceress, the seed of the adulterer and the whore. %%% Naye musembere wano, mmwe batabani b'omukazi omulogo, ezzadde ly'omwenzi n'omukazi omutambuzi. 23ISA057.004 Against whom do ye sport yourselves? against whom make ye a wide mouth, and draw out the tongue? are ye not children of transgression, a seed of falsehood, %%% Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana ba kusobya, zzadde lya bulimba, 23ISA057.005 Enflaming yourselves with idols under every green tree, slaying the children in the valleys under the clifts of the rocks? %%% mmwe abeereetera okwegomba mu mivule, wansi wa buli muti ogumera; abattira abaana mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi? 23ISA057.006 Among the smooth stones of the stream is thy portion; they, they are thy lot: even to them hast thou poured a drink offering, thou hast offered a meat offering. Should I receive comfort in these? %%% Mu mayinja amaweweevu ag'omu kiwonvu we wali omugabo gwo; ago, ago kye kitundu kyo: ago ge wafuukira ekiweebwayo ekyokunywa, ge wawa ekirabo. Ndiwooyawooyezebwa ebyo nga bibaddewo? 23ISA057.007 Upon a lofty and high mountain hast thou set thy bed: even thither wentest thou up to offer sacrifice. %%% Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo: era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka. 23ISA057.008 Behind the doors also and the posts hast thou set up thy remembrance: for thou hast discovered thyself to another than me, and art gone up; thou hast enlarged thy bed, and made thee a covenant with them; thou lovedst their bed where thou sawest it. %%% Era wasimba ekijjukizo kyo ennyuma w'enzigi n'emifuubeeto: kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye; ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira. 23ISA057.009 And thou wentest to the king with ointment, and didst increase thy perfumes, and didst send thy messengers far off, and didst debase thyself even unto hell. %%% N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu, n'oyongera kalifuwa wo, n'otuma wala ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe. 23ISA057.010 Thou art wearied in the greatness of thy way; yet saidst thou not, There is no hope: thou hast found the life of thine hand; therefore thou wast not grieved. %%% Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n'otoyogera nti Tewali ssuubi: walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika. 23ISA057.011 And of whom hast thou been afraid or feared, that thou hast lied, and hast not remembered me, nor laid it to thy heart? have not I held my peace even of old, and thou fearest me not? %%% Era ani gwe watya n'otekemuka n'okulimba n'olimba n'otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw'edda saasirika busirisi, naawe n'otontya? 23ISA057.012 I will declare thy righteousness, and thy works; for they shall not profit thee. %%% Ndibuulira obutuukirivu bwo, n'ebikolwa byo nabyo tebirikugasa. 23ISA057.013 When thou criest, let thy companies deliver thee; but the wind shall carry them all away; vanity shall take them: but he that putteth his trust in me shall possess the land, and shall inherit my holy mountain; %%% Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna: naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu. 23ISA057.014 And shall say, Cast ye up, cast ye up, prepare the way, take up the stumblingblock out of the way of my people. %%% Era alyogera nti Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange. 23ISA057.015 For thus saith the high and lofty One that inhabiteth eternity, whose name is Holy; I dwell in the high and holy place, with him also that is of a contrite and humble spirit, to revive the spirit of the humble, and to revive the heart of the contrite ones. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde. 23ISA057.016 For I will not contend for ever, neither will I be always wroth: for the spirit should fail before me, and the souls which I have made. %%% Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola. 23ISA057.017 For the iniquity of his covetousness was I wroth, and smote him: I hid me, and was wroth, and he went on frowardly in the way of his heart. %%% Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nakweka amaaso gange ne nsunguwala: ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe. 23ISA057.018 I have seen his ways, and will heal him: I will lead him also, and restore comforts unto him and to his mourners. %%% Ndabye amakubo ge; era ndimuwonya: n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n'abo abamukaabirako. 23ISA057.019 I create the fruit of the lips; Peace, peace to him that is far off, and to him that is near, saith the LORD; and I will heal him. %%% Nze ntonda ebibala eby'emimwa: Emirembe, emirembe eri oyo ali ewala n'eri oyo ali okumpi, bw'ayogera Mukama; nange ndimuwonya. 23ISA057.020 But the wicked are like the troubled sea, when it cannot rest, whose waters cast up mire and dirt. %%% Naye ababi baliŋŋanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro. 23ISA057.021 There is no peace, saith my God, to the wicked. %%% Tewali mirembe, bw'ayogera Katonda wange, eri ababi. 23ISA058.001 Cry aloud, spare not, lift up thy voice like a trumpet, and shew my people their transgression, and the house of Jacob their sins. %%% Yogerera waggulu, tota, yimusa eddoboozi lyo ng'ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n'ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe. 23ISA058.002 Yet they seek me daily, and delight to know my ways, as a nation that did righteousness, and forsook not the ordinance of their God: they ask of me the ordinances of justice; they take delight in approaching to God. %%% Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange: ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu, ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu; basanyuka okusemberera Katonda. 23ISA058.003 Wherefore have we fasted, say they, and thou seest not? wherefore have we afflicted our soul, and thou takest no knowledge? Behold, in the day of your fast ye find pleasure, and exact all your labours. %%% Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba? lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaako mwoyo? Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe, n'emirimu gyammwe gyonna nga mukoze n'amaanyi. 23ISA058.004 Behold, ye fast for strife and debate, and to smite with the fist of wickedness: ye shall not fast as ye do this day, to make your voice to be heard on high. %%% Laba, musiibira ennyombo n'okuwakana, n'okukuba ekikonde eky'ettima: temusiiba leero bwe mutyo n'okuwuliza ne muwuliza eddoboozi lyammwe mu ggulu. 23ISA058.005 Is it such a fast that I have chosen? a day for a man to afflict his soul? is it to bow down his head as a bulrush, and to spread sackcloth and ashes under him? wilt thou call this a fast, and an acceptable day to the LORD? %%% Okusiiba kwe nnalonda bwe kufaanana bwe kutyo? Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe? Kwe kukutamya omutwe ng'olulago, n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we? ekyo ky'onooyita okusiiba, era olunaku Mukama lw'asiima? 23ISA058.006 Is not this the fast that I have chosen? to loose the bands of wickedness, to undo the heavy burdens, and to let the oppressed go free, and that ye break every yoke? %%% Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo? 23ISA058.007 Is it not to deal thy bread to the hungry, and that thou bring the poor that are cast out to thy house? when thou seest the naked, that thou cover him; and that thou hide not thyself from thine own flesh? %%% Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekisa mubiri gwo ggwe? 23ISA058.008 Then shall thy light break forth as the morning, and thine health shall spring forth speedily: and thy righteousness shall go before thee; the glory of the LORD shall be thy rereward. %%% Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya, n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja: n'obutuukirivu bwo bulikukulembera; ekitiibwa kya Mukama kye kirikusemba. 23ISA058.009 Then shalt thou call, and the LORD shall answer; thou shalt cry, and he shall say, Here I am. If thou take away from the midst of thee the yoke, the putting forth of the finger, and speaking vanity; %%% N'olyoka oyita Mukama n'ayitaba; olikaaba naye alyogera nti Nze nzuuno. Bw'onoggya wakati wo ekikoligo, okulaga olunwe, n'okwogera obubi; 23ISA058.010 And if thou draw out thy soul to the hungry, and satisfy the afflicted soul; then shall thy light rise in obscurity, and thy darkness be as the noon day: %%% n'omuggirawo omuyala obulamu bwo, n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa; kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza, n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu: 23ISA058.011 And the LORD shall guide thee continually, and satisfy thy soul in drought, and make fat thy bones: and thou shalt be like a watered garden, and like a spring of water, whose waters fail not. %%% era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi. 23ISA058.012 And they that shall be of thee shall build the old waste places: thou shalt raise up the foundations of many generations; and thou shalt be called, The repairer of the breach, The restorer of paths to dwell in. %%% N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika: olizza emisingi egy'emirembe emingi: era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu. 23ISA058.013 If thou turn away thy foot from the sabbath, from doing thy pleasure on my holy day; and call the sabbath a delight, the holy of the LORD, honourable; and shalt honour him, not doing thine own ways, nor finding thine own pleasure, nor speaking thine own words: %%% Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe: 23ISA058.014 Then shalt thou delight thyself in the LORD; and I will cause thee to ride upon the high places of the earth, and feed thee with the heritage of Jacob thy father: for the mouth of the LORD hath spoken it. %%% kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. 23ISA059.001 Behold, the LORD's hand is not shortened, that it cannot save; neither his ear heavy, that it cannot hear: %%% Laba, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n'okuyinza ne gutayinza kulokola; so n'okutu kwe tekumuggadde n'okuyinza ne kutayinza kuwulira: 23ISA059.002 But your iniquities have separated between you and your God, and your sins have hid his face from you, that he will not hear. %%% naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bwawudde mmwe ne Katonda wammwe, n'ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso, n’atayagala kuwulira. 23ISA059.003 For your hands are defiled with blood, and your fingers with iniquity; your lips have spoken lies, your tongue hath muttered perverseness. %%% Kubanga emikono gyammwe gyonoonese n'omusaayi, engalo zammwe n'obutali butuukirivu; emimwa gyammwe gyogedde eby'obulimba, olulimi lwammwe luvulungutana eby'ekyejo. 23ISA059.004 None calleth for justice, nor any pleadeth for truth: they trust in vanity, and speak lies; they conceive mischief, and bring forth iniquity. %%% Tewali awaaba eby'ensonga so tewali awoza eby'amazima: beesiga obutaliimu ne boogera eby'obulimba; baba mbuto za bubi ne bazaala obutali butuukirivu. 23ISA059.005 They hatch cockatrice' eggs, and weave the spider's web: he that eateth of their eggs dieth, and that which is crushed breaketh out into a viper. %%% Baalula amagi ag'essalambwa ne baluka engoye eza nnabbubi: alya ku magi gaabwe afa n'ekyo ekibetentebwa ne kiwamatukamu embalasaasa. 23ISA059.006 Their webs shall not become garments, neither shall they cover themselves with their works: their works are works of iniquity, and the act of violence is in their hands. %%% Engoye zaabwe tezirifuuka byambalo, so tebalyebikka mirimu gyabwe: emirimu gyabwe mirimu gya butali butuukirivu, n'ekikolwa eky'ekyejo kiri mu ngalo zaabwe. 23ISA059.007 Their feet run to evil, and they make haste to shed innocent blood: their thoughts are thoughts of iniquity; wasting and destruction are in their paths. %%% Ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, era banguya okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango: ebirowoozo byabwe birowoozo bya butali butuukirivu; okuzika n'okuzikirizibwa kuba mu makubo gaabwe. 23ISA059.008 The way of peace they know not; and there is no judgment in their goings: they have made them crooked paths: whosoever goeth therein shall not know peace. %%% Ekkubo ery'emirembe tebalimanyi; so mu magenda gaabwe temuli musango: beekubidde amakubo amakyamu; buli atambulira omwo tamanyi mirembe. 23ISA059.009 Therefore is judgment far from us, neither doth justice overtake us: we wait for light, but behold obscurity; for brightness, but we walk in darkness. %%% Omusango kyeguva gutubeera ewala, so n'obutuukirivu tebututuukako: tusuubira omusana, naye ne tulaba kizikiza; tusuubira okumasamasa naye ne tutambulira mu kifu. 23ISA059.010 We grope for the wall like the blind, and we grope as if we had no eyes: we stumble at noon day as in the night; we are in desolate places as dead men. %%% Tuwammanta ekisenge ng'abazibe b'amaaso, weewaawo, tuwammanta ng'abo abatalina maaso twesitala mu ttuntu ng'ekiro; mu abo abalina amaanyi tuliŋŋanga abafu. 23ISA059.011 We roar all like bears, and mourn sore like doves: we look for judgment, but there is none; for salvation, but it is far off from us. %%% Fenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu: tusuubira omusango naye nga tewali; tusuubira obulokozi, naye butuli wala. 23ISA059.012 For our transgressions are multiplied before thee, and our sins testify against us: for our transgressions are with us; and as for our iniquities, we know them; %%% Kubanga okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, n'ebibi byaffe be bajulirwa gye tuli: kubanga okusobya kwaffe kuli naffe, n’obutali butuukirivu bwaffe nabwo tubumanyi: 23ISA059.013 In transgressing and lying against the LORD, and departing away from our God, speaking oppression and revolt, conceiving and uttering from the heart words of falsehood. %%% nga tusobya era nga twegaana Mukama, era nga tukyuka obutagoberera Katonda waffe, nga twogera eby'okujooga n’eby'okujeema, nga tugunja ebigambo eby'obulimba era nga tubyogera okuva mu mutima. 23ISA059.014 And judgment is turned away backward, and justice standeth afar off: for truth is fallen in the street, and equity cannot enter. %%% N'omusango gukyusibwa okudda ennyuma, n'obutuukirivu buyimirira wala: kubanga amazima gagwiridde mu luguudo, so n'obugolokofu tebuyinza kuyingira. 23ISA059.015 Yea, truth faileth; and he that departeth from evil maketh himself a prey: and the LORD saw it, and it displeased him that there was no judgment. %%% Weewaawo, amazima gabuze; n'oyo ava mu bubi yeefuula munyago: Mukama n'akiraba n'anyiiga obutabaawo musango. 23ISA059.016 And he saw that there was no man, and wondered that there was no intercessor: therefore his arm brought salvation unto him; and his righteousness, it sustained him. %%% N'alaba nga tewali muntu, ne yeewuunya obutabaawo muwolereza: omukono gwe ye kyegwava gumuleetera obulokozi; n'obutuukirivu bwe bwe bwamuwanirira. 23ISA059.017 For he put on righteousness as a breastplate, and an helmet of salvation upon his head; and he put on the garments of vengeance for clothing, and was clad with zeal as a cloak. %%% N'ayambala obutuukirivu ng'eky'omu kifuba, n'enkuufiira ey'obulokozi ku mutwe gwe; n'ayambala engoye ez'okuwalana eggwanga okuba ebyambalo, n'ayambazibwa obunyiikivu ng'omunagiro. 23ISA059.018 According to their deeds, accordingly he will repay, fury to his adversaries, recompence to his enemies; to the islands he will repay recompence. %%% Ng'ebikolwa byabwe bwe biriba, bw'atyo bw'alisasula, abamukyawa alibasasula ekiruyi, abamukyawa alibasasula empeera; alisasula ebizinga empeera. 23ISA059.019 So shall they fear the name of the LORD from the west, and his glory from the rising of the sun. When the enemy shall come in like a flood, the Spirit of the LORD shall lift up a standard against him. %%% Kale balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa n'omukka gwa Mukama. 23ISA059.020 And the Redeemer shall come to Zion, and unto them that turn from transgression in Jacob, saith the LORD. %%% Era omununuzi alijja e Sayuuni n'eri abo abakyuka okuva mu kusobya mu Yakobo, bw'ayogera Mukama. 23ISA059.021 As for me, this is my covenant with them, saith the LORD; My spirit that is upon thee, and my words which I have put in thy mouth, shall not depart out of thy mouth, nor out of the mouth of thy seed, nor out of the mouth of thy seed's seed, saith the LORD, from henceforth and for ever. %%% Nange eno y'endagaano yange gye ndagaana nabo, bw'ayogera Mukama: omwoyo gwange oguli ku ggwe n'ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko tebiivenga mu kamwa ko newakubadde mu kamwa k'ezzadde lyo newakubadde mu kamwa k'ezzadde ly'ezzadde lyo, bw'ayogera Mukama, okusooka kaakano n'emirembe n'emirembe. 23ISA060.001 Arise, shine; for thy light is come, and the glory of the LORD is risen upon thee. %%% Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo. 23ISA060.002 For, behold, the darkness shall cover the earth, and gross darkness the people: but the LORD shall arise upon thee, and his glory shall be seen upon thee. %%% Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe. 23ISA060.003 And the Gentiles shall come to thy light, and kings to the brightness of thy rising. %%% N'amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng'ovaayo. 23ISA060.004 Lift up thine eyes round about, and see: all they gather themselves together, they come to thee: thy sons shall come from far, and thy daughters shall be nursed at thy side. %%% Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi. 23ISA060.005 Then thou shalt see, and flow together, and thine heart shall fear, and be enlarged; because the abundance of the sea shall be converted unto thee, the forces of the Gentiles shall come unto thee. %%% Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa, n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli, obugagga obw'amawanga bulikujjira. 23ISA060.006 The multitude of camels shall cover thee, the dromedaries of Midian and Ephah; all they from Sheba shall come: they shall bring gold and incense; and they shall shew forth the praises of the LORD. %%% Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira ez'e Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama. 23ISA060.007 All the flocks of Kedar shall be gathered together unto thee, the rams of Nebaioth shall minister unto thee: they shall come up with acceptance on mine altar, and I will glorify the house of my glory. %%% Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza: zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange. 23ISA060.008 Who are these that fly as a cloud, and as the doves to their windows? %%% Bano be baani ababuuka ng'ekire era nga bukaamukuukulu eri ebituli byabwo? 23ISA060.009 Surely the isles shall wait for me, and the ships of Tarshish first, to bring thy sons from far, their silver and their gold with them, unto the name of the LORD thy God, and to the Holy One of Israel, because he hath glorified thee. %%% Mazima ebizinga birinnindirira, n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo, olw'erinnya lya Mukama Katonda wo n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa. 23ISA060.010 And the sons of strangers shall build up thy walls, and their kings shall minister unto thee: for in my wrath I smote thee, but in my favour have I had mercy on thee. %%% Era bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa. 23ISA060.011 Therefore thy gates shall be open continually; they shall not be shut day nor night; that men may bring unto thee the forces of the Gentiles, and that their kings may be brought. %%% Era n'enzigi zo ziaaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe. 23ISA060.012 For the nation and kingdom that will not serve thee shall perish; yea, those nations shall be utterly wasted. %%% Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala. 23ISA060.013 The glory of Lebanon shall come unto thee, the fir tree, the pine tree, and the box together, to beautify the place of my sanctuary; and I will make the place of my feet glorious. %%% Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; okuwoomya ekifo eky'awatukuvu wange, era ndifuula ekifo eky'ebigere byange okuba eky'ekitiibwa. 23ISA060.014 The sons also of them that afflicted thee shall come bending unto thee; and all they that despised thee shall bow themselves down at the soles of thy feet; and they shall call thee, The city of the LORD, The Zion of the Holy One of Israel. %%% N'abaana b'abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n'abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri. 23ISA060.015 Whereas thou hast been forsaken and hated, so that no man went through thee, I will make thee an eternal excellency, a joy of many generations. %%% Kubanga walekebwa n'okyayibwa ne wataba muntu ayita mu ggwe, ndikufuula okuba obulungi obungi obutaliggwaawo, essanyu ery'emirembe emingi. 23ISA060.016 Thou shalt also suck the milk of the Gentiles, and shalt suck the breast of kings: and thou shalt know that I the LORD am thy Saviour and thy Redeemer, the mighty One of Jacob. %%% N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Owaamaanyi owa Yakobo. 23ISA060.017 For brass I will bring gold, and for iron I will bring silver, and for wood brass, and for stones iron: I will also make thy officers peace, and thine exactors righteousness. %%% Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky'ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja ndireeta kyuma: era. ndifuula abaami bo okuba emirembe n'abakusolooza okuba obutuukirivu. 23ISA060.018 Violence shall no more be heard in thy land, wasting nor destruction within thy borders; but thou shalt call thy walls Salvation, and thy gates Praise. %%% Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n'enzigi zo Kutendereza. 23ISA060.019 The sun shall be no more thy light by day; neither for brightness shall the moon give light unto thee: but the LORD shall be unto thee an everlasting light, and thy God thy glory. %%% Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa: naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo. 23ISA060.020 Thy sun shall no more go down; neither shall thy moon withdraw itself: for the LORD shall be thine everlasting light, and the days of thy mourning shall be ended. %%% Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n'omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo. 23ISA060.021 Thy people also shall be all righteous: they shall inherit the land for ever, the branch of my planting, the work of my hands, that I may be glorified. %%% Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa. 23ISA060.022 A little one shall become a thousand, and a small one a strong nation: I the LORD will hasten it in his time. %%% Omuto alifuuka lukumi n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse. 23ISA061.001 The Spirit of the Lord GOD is upon me; because the LORD hath anointed me to preach good tidings unto the meek; he hath sent me to bind up the brokenhearted, to proclaim liberty to the captives, and the opening of the prison to them that are bound; %%% Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera; 23ISA061.002 To proclaim the acceptable year of the LORD, and the day of vengeance of our God; to comfort all that mourn; %%% Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde; 23ISA061.003 To appoint unto them that mourn in Zion, to give unto them beauty for ashes, the oil of joy for mourning, the garment of praise for the spirit of heaviness; that they might be called trees of righteousness, the planting of the LORD, that he might be glorified. %%% okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa ye. 23ISA061.004 And they shall build the old wastes, they shall raise up the former desolations, and they shall repair the waste cities, the desolations of many generations. %%% Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi. 23ISA061.005 And strangers shall stand and feed your flocks, and the sons of the alien shall be your plowmen and your vinedressers. %%% Era bannaggwanga baliyimirira ne baliisa endiga zammwe, n'abagenyi be banaabalimiranga be banaabalongooserezanga emizabbibu. 23ISA061.006 But ye shall be named the Priests of the LORD: men shall call you the Ministers of our God: ye shall eat the riches of the Gentiles, and in their glory shall ye boast yourselves. %%% Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama: abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe: mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza. 23ISA061.007 For your shame ye shall have double; and for confusion they shall rejoice in their portion: therefore in their land they shall possess the double: everlasting joy shall be unto them. %%% Mu kifo ky'ensonyi zammwe muliweebwa emirundi ebiri; ne mu kifo ky'okuswala balisanyukira omugabo gwabwe: kyebaliva babeera n'emirundi ebiri mu nsi yaabwe: baliba n'essanyu eritaliggwaawo. 23ISA061.008 For I the LORD love judgment, I hate robbery for burnt offering; and I will direct their work in truth, and I will make an everlasting covenant with them. %%% Kubanga nze Mukama njagala omusango ogw'ensonga, nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu; era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali, era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo. 23ISA061.009 And their seed shall be known among the Gentiles, and their offspring among the people: all that see them shall acknowledge them, that they are the seed which the LORD hath blessed. %%% N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga, n'enda yaabwe mu bantu: bonna abaabalabanga balibakkiriza ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa. 23ISA061.010 I will greatly rejoice in the LORD, my soul shall be joyful in my God; for he hath clothed me with the garments of salvation, he hath covered me with the robe of righteousness, as a bridegroom decketh himself with ornaments, and as a bride adorneth herself with her jewels. %%% Naasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule, era ng'omugole bwe yeewoomya n'ebyobuyonjo bwe. 23ISA061.011 For as the earth bringeth forth her bud, and as the garden causeth the things that are sown in it to spring forth; so the Lord GOD will cause righteousness and praise to spring forth before all the nations. %%% Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna. 23ISA062.001 For Zion's sake will I not hold my peace, and for Jerusalem's sake I will not rest, until the righteousness thereof go forth as brightness, and the salvation thereof as a lamp that burneth. %%% Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa, n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka. 23ISA062.002 And the Gentiles shall see thy righteousness, and all kings thy glory: and thou shalt be called by a new name, which the mouth of the LORD shall name. %%% Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma. 23ISA062.003 Thou shalt also be a crown of glory in the hand of the LORD, and a royal diadem in the hand of thy God. %%% Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo. 23ISA062.004 Thou shalt no more be termed Forsaken; neither shall thy land any more be termed Desolate: but thou shalt be called Hephzibah, and thy land Beulah: for the LORD delighteth in thee, and thy land shall be married. %%% Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa. 23ISA062.005 For as a young man marrieth a virgin, so shall thy sons marry thee: and as the bridegroom rejoiceth over the bride, so shall thy God rejoice over thee. %%% Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira. 23ISA062.006 I have set watchmen upon thy walls, O Jerusalem, which shall never hold their peace day nor night: ye that make mention of the LORD, keep not silence, %%% Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro: mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga, 23ISA062.007 And give him no rest, till he establish, and till he make Jerusalem a praise in the earth. %%% so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n’afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi. 23ISA062.008 The LORD hath sworn by his right hand, and by the arm of his strength, Surely I will no more give \thy corn to be meat for thine enemies; and the sons of the stranger shall not drink thy wine, for the which thou hast laboured: %%% Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu: 23ISA062.009 But they that have gathered it shall eat it, and praise the LORD; and they that have brought it together shall drink it in the courts of my holiness. %%% naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n'abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez'omu watukuvu wange. 23ISA062.010 Go through, go through the gates; prepare ye the way of the people; cast up, cast up the highway; gather out the stones; lift up a standard for the people. %%% Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera. 23ISA062.011 Behold, the LORD hath proclaimed unto the end of the world, Say ye to the daughter of Zion, Behold, thy salvation cometh; behold, his reward is with him, and his work before him. %%% Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge. 23ISA062.012 And they shall call them, The holy people, The redeemed of the LORD: and thou shalt be called, Sought out, A city not forsaken. %%% Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama: naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa. 23ISA063.001 Who is this that cometh from Edom, with dyed garments from Bozrah? this that is glorious in his apparel, travelling in the greatness of his strength? I that speak in righteousness, mighty to save. %%% Ani ono ava mu Edomu, ng'alina ebyambalo ebinnyike mu ddagala ng'ava e Bozula? ono alina engoye ez'ekitiibwa, ng'atambuza amaanyi ge amangi? Nze ayogera obutuukirivu, ow'amaanyi okulokola. 23ISA063.002 Wherefore art thou red in thine apparel, and thy garments like him that treadeth in the winefat? %%% Obeeredde ki omumyufu mu byambalo byo, engoye zo ne zifaanana oyo asambira mu ssogolero? 23ISA063.003 I have trodden the winepress alone; and of the people there was none with me: for I will tread them in mine anger, and trample them in my fury; and their blood shall be sprinkled upon my garments, and I will stain all my raiment. %%% Nsambye essogolero omu nzekka so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange: weewaawo, nabasamba mu busungu bwange ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange era engoye zange zonna zijjudde amabala. 23ISA063.004 For the day of vengeance is in mine heart, and the year of my redeemed is come. %%% Kubanga olunaku olw'okuwalanirwako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse. 23ISA063.005 And I looked, and there was none to help; and I wondered that there was none to uphold: therefore mine own arm brought salvation unto me; and my fury, it upheld me. %%% Ne mmagamaga ne wataba muyambi; ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira: omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi n'ekiruyi kyange kye kyampanirira. 23ISA063.006 And I will tread down the people in mine anger, and make them drunk in my fury, and I will bring down their strength to the earth. %%% Ne nninnyirira amawanga wansi mu busungu bwange, ne mbatamiiza ku kiruyi kyange, ne nfuka ku ttaka omusaayi ogw'obulamu bwabwe. 23ISA063.007 I will mention the lovingkindnesses of the LORD, and the praises of the LORD, according to all that the LORD hath bestowed on us, and the great goodness toward the house of Israel, which he hath bestowed on them according to his mercies, and according to the multitude of his lovingkindnesses. %%% Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi n'amatendo ga Mukama, nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama; n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri, bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli era ng'olufulube bwe luli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi. 23ISA063.008 For he said, Surely they are my people, children that will not lie: so he was their Saviour. %%% Kubanga yayogera nti Mazima be bantu bange, abaana abatalikuusakuusa: kale n'aba mulokozi waabwe. 23ISA063.009 In all their affliction he was afflicted, and the angel of his presence saved them: in his love and in his pity he redeemed them; and he bare them, and carried them all the days of old. %%% Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga: mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abeetikkiranga ennaku zonna ez'edda. 23ISA063.010 But they rebelled, and vexed his holy Spirit: therefore he was turned to be their enemy, and he fought against them. %%% Naye ne bajeema ne banakuwaza omwoyo gwe omutukuvu: kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe; n'alwana nabo ye yennyini. 23ISA063.011 Then he remembered the days of old, Moses, and his people, saying, Where is he that brought them up out of the sea with the shepherd of his flock? where is he that put his holy Spirit within him? %%% Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda, Musa n'abantu be, ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja wamu n'abasumba b'endiga ze? ali ludda wa oyo eyateeka omwoyo gwe omutukuvu wakati mu bo? 23ISA063.012 That led them by the right hand of Moses with his glorious arm, dividing the water before them, to make himself an everlasting name? %%% eyatambuzanga omukono gwe ogw'ekitiibwa awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa? eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe okwekolera erinnya eritaliggwaawo? 23ISA063.013 That led them through the deep, as an horse in the wilderness, that they should not stumble? %%% eyabayisa mu buziba, ng'embaalasi mu ddungu, obuteesittala? 23ISA063.014 As a beast goeth down into the valley, the Spirit of the LORD caused him to rest: so didst thou lead thy people, to make thyself a glorious name. %%% Ng'ente bwe ziba ezikka mu kiwonvu, omwoyo gwa Mukama gwabawummuzanga bwe gutyo: bwe watwala bw'otyo abantu bo okwekolera erinnya ery'ekitiibwa. 23ISA063.015 Look down from heaven, and behold from the habitation of thy holiness and of thy glory: where is thy zeal and thy strength, the sounding of thy bowels and of thy mercies toward me? are they restrained? %%% Tunula ng'oyima mu ggulu, olabe ng'oyima mu nnyumba ey'obutukuvu bwo n'ekitiibwa kyo: buli ludda wa obunyiikivu bwo n'ebikolwa byo eby'amaanyi? okwagala kw'emmeeme yo n'okusaasira kwo kuziyizibwa gye ndi. 23ISA063.016 Doubtless thou art our father, though Abraham be ignorant of us, and Israel acknowledge us not: thou, O LORD, art our father, our redeemer; thy name is from everlasting. %%% Kubanga gwe Kitaffe, newakubadde nga Ibulayimu tatumanyi so ne Isiraeri ga tatukkiriza: ggwe, ai Mukama, gwe Kitaffe; omununuzi waffe okuva emirembe n'emirembe lye linnya lyo. 23ISA063.017 O LORD, why hast thou made us to err from thy ways, and hardened our heart from thy fear? Return for thy servants' sake, the tribes of thine inheritance. %%% Ai Mukama, lwaki gwe okutukyamya mu makubo go n'okakanyaza omutima gwaffe obutakutya? Komawo ku lw'abaddu bo, ebika eby'obusika bwo. 23ISA063.018 The people of thy holiness have possessed it but a little while: our adversaries have trodden down thy sanctuary. %%% Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera kaseera buseera: abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo. 23ISA063.019 We are thine: thou never barest rule over them; they were not called by thy name. %%% Tufuuse ng'abo b'otofuganga; ng'abo abatatuumibwanga linnya lyo. 23ISA064.001 Oh that thou wouldest rend the heavens, that thou wouldest come down, that the mountains might flow down at thy presence, %%% Singa oyuzizza eggulu, singa osse ensozi ne zikulukuta olw'okujja kwo; 23ISA064.002 As when the melting fire burneth, the fire causeth the waters to boil, to make thy name known to thine adversaries, that the nations may tremble at thy presence! %%% ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, ng'omuliro bwe gweseza amazzi: okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire okujja kwo! 23ISA064.003 When thou didst terrible things which we looked not for, thou camest down, the mountains flowed down at thy presence. %%% Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga, wakka, ensozi ne zikulukuta olw'okujja wo. 23ISA064.004 For since the beginning of the world men have not heard, nor perceived by the ear, neither hath the eye seen, O God, beside thee, what he hath prepared for him that waiteth for him. %%% Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubategeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira. 23ISA064.005 Thou meetest him that rejoiceth and worketh righteousness, those that remember thee in thy ways: behold, thou art wroth; for we have sinned: in those is continuance, and we shall be saved. %%% Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go: laba, wasunguwala naffe ne twonoona: obw'edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka? 23ISA064.006 But we are all as an unclean thing, and all our righteousnesses are as filthy rags; and we all do fade as a leaf; and our iniquities, like the wind, have taken us away. %%% Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋanga ekyambalo ekikongedde: era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo. 23ISA064.007 And there is none that calleth upon thy name, that stirreth up himself to take hold of thee: for thou hast hid thy face from us, and hast consumed us, because of our iniquities. %%% So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe. 23ISA064.008 But now, O LORD, thou art our father; we are the clay, and thou our potter; and we all are the work of thy hand. %%% Naye kaakano, ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo. 23ISA064.009 Be not wroth very sore, O LORD, neither remember iniquity for ever: behold, see, we beseech thee, we are all thy people. %%% Tosunguwala nnyo nnyini, ai Mukama, so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna: laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo. 23ISA064.010 Thy holy cities are a wilderness, Zion is a wilderness, Jerusalem a desolation. %%% Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu, Sayuuni kifuuse ddungu, Yerusaalemi matongo. 23ISA064.011 Our holy and our beautiful house, where our fathers praised thee, is burned up with fire: and all our pleasant things are laid waste. %%% Ennyumba yaffe entukuvu ennungi, bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, eyokeddwa omuliro; n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye. 23ISA064.012 Wilt thou refrain thyself for these things, O LORD? wilt thou hold thy peace, and afflict us very sore? %%% Olizibiikiriza ebyo nga bimaze okubaawo, ai Mukama olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini? 23ISA065.001 I am sought of them that asked not for me; I am found of them that sought me not: I said, Behold me, behold me, unto a nation that was not called by my name. %%% Mbuuzibwako abo abatambuuzaagako; ndabiddwa abo abatannoonyanga: nagamba nti Ndaba, ndaba, eri eggwanga eritatuumibwanga linnya lyange. 23ISA065.002 I have spread out my hands all the day unto a rebellious people, which walketh in a way that was not good, after their own thoughts; %%% Ngololedde emikono gyange okuzibya obudde abantu abajeemu abatambulira mu kkubo eritali ddungi, okugoberera ebirowoozo byabwe bo; 23ISA065.003 A people that provoketh me to anger continually to my face; that sacrificeth in gardens, and burneth incense upon altars of brick; %%% abantu abansunguwaza mu maaso gange olutata, nga basalira ssaddaaka mu nsuku, era nga bootereza obubaane ku matoffaali; 23ISA065.004 Which remain among the graves, and lodge in the monuments, which eat swine's flesh, and broth of abominable things is in their vessels; %%% abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya ennyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe; 23ISA065.005 Which say, Stand by thyself, come not near to me; for I am holier than thou. These are a smoke in my nose, a fire that burneth all the day. %%% aboogera nti Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu: abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde. 23ISA065.006 Behold, it is written before me: I will not keep silence, but will recompense, even recompense into their bosom, %%% Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange: sirisirika, naye ndisasula, weewaawo, ndisasula mu kifuba kyabwe 23ISA065.007 Your iniquities, and the iniquities of your fathers together, saith the LORD, which have burned incense upon the mountains, and blasphemed me upon the hills: therefore will I measure their former work into their bosom. %%% obutali butuukirivu bwammwe mmwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw'ayogera Mukama, abaayoterezanga obubaane ku asozi ne banzivoolera ku busozi: kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe. 23ISA065.008 Thus saith the LORD, As the new wine is found in the cluster, and one saith, Destroy it not; for a blessing is in it: so will I do for my servants' sakes, that I may not destroy them all. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo eyogera nti Tokizikiriza kubanga mulimu omukisa: bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange nneme okubazikiriza bonna. 23ISA065.009 And I will bring forth a seed out of Jacob, and out of Judah an inheritor of my mountains: and mine elect shall inherit it, and my servants shall dwell there. %%% Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange: n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo. 23ISA065.010 And Sharon shall be a fold of flocks, and the valley of Achor a place for the herds to lie down in, for my people that have sought me. %%% Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza. 23ISA065.011 But ye are they that forsake the LORD, that forget my holy mountain, that prepare a table for that troop, and that furnish the drink offering unto that number. %%% Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Mukisa emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule; 23ISA065.012 Therefore will I number you to the sword, and ye shall all bow down to the slaughter: because when I called, ye did not answer; when I spake, ye did not hear; but did evil before mine eyes, and did choose that wherein I delighted not. %%% nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira. 23ISA065.013 Therefore thus saith the Lord GOD, Behold, my servants shall eat, but ye shall be hungry: behold, my servants shall drink, but ye shall be thirsty: behold, my servants shall rejoice, but ye shall be ashamed: %%% Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala: 23ISA065.014 Behold, my servants shall sing for joy of heart, but ye shall cry for sorrow of heart, and shall howl for vexation of spirit. %%% laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa. 23ISA065.015 And ye shall leave your name for a curse unto my chosen: for the Lord GOD shall slay thee, and call his servants by another name: %%% Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala: 23ISA065.016 That he who blesseth himself in the earth shall bless himself in the God of truth; and he that sweareth in the earth shall swear by the God of truth; because the former troubles are forgotten, and because they are hid from mine eyes. %%% eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima; n'oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange. 23ISA065.017 For, behold, I create new heavens and a new earth: and the former shall not be remembered, nor come into mind. %%% Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. 23ISA065.018 But be ye glad and rejoice for ever in that which I create: for, behold, I create Jerusalem a rejoicing, and her people a joy. %%% Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu. 23ISA065.019 And I will rejoice in Jerusalem, and joy in my people: and the voice of weeping shall be no more heard in her, nor the voice of crying. %%% Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira. 23ISA065.020 There shall be no more thence an infant of days, nor an old man that hath not filled his days: for the child shall die an hundred years old; but the sinner being an hundred years old shall be accursed. %%% Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n'alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa. 23ISA065.021 And they shall build houses, and inhabit them; and they shall plant vineyards, and eat the fruit of them. %%% Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu. 23ISA065.022 They shall not build, and another inhabit; they shall not plant, and another eat: for as the days of a tree are the days of my people, and mine elect shall long enjoy the work of their hands. %%% Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya: kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe. 23ISA065.023 They shall not labour in vain, nor bring forth for trouble; for they are the seed of the blessed of the LORD, and their offspring with them. %%% Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo. 23ISA065.024 And it shall come to pass, that before they call, I will answer; and while they are yet speaking, I will hear. %%% Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. 23ISA065.025 The wolf and the lamb shall feed together, and the lion shall eat straw like the bullock: and dust shall be the serpent's meat. They shall not hurt nor destroy in all my holy mountain, saith the LORD. %%% Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama. 23ISA066.001 Thus saith the LORD, The heaven is my throne, and the earth is my footstool: where is the house that ye build unto me? and where is the place of my rest? %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange: nnyumba ki gye mulinzimbira? era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange? 23ISA066.002 For all those things hath mine hand made, and all those things have been, saith the LORD: but to this man will I look, even to him that is poor and of a contrite spirit, and trembleth at my word. %%% Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama: naye omwavu era alina omwoyo oguboneredde era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira. 23ISA066.003 He that killeth an ox is as if he slew a man; he that sacrificeth a lamb, as if he cut off a dog's neck; he that offereth an oblation, as if he offered swine's blood; he that burneth incense, as if he blessed an idol. Yea, they have chosen their own ways, and their soul delighteth in their abominations. %%% Asala ente aliŋŋanga atta omuntu; awaayo omwana gw'endiga aliŋŋanga amenyako embwa obugalo; aleeta ekiweebwayo aliŋŋanga aleeta omusaayi gw'embizzi; ayoteza omugavu ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa: weewaawo, balonze amakubo gaabwe bo, n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe; 23ISA066.004 I also will choose their delusions, and will bring their fears upon them; because when I called, none did answer; when I spake, they did not hear: but they did evil before mine eyes, and chose that in which I delighted not. %%% era nange ndironda ebibalimbalimba, ne mbaleetako ebyo bye batya; kubanga bwe nnayita ne wataba muntu eyayitaba; bwe nnayogera tebaawulira: naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange, ne balonda ekyo kye ssaasanyukira. 23ISA066.005 Hear the word of the LORD, ye that tremble at his word; Your brethren that hated you, that cast you out for my name's sake, said, Let the LORD be glorified: but he shall appear to your joy, and they shall be ashamed. %%% Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakankanira ekigambo kye: nti Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi. 23ISA066.006 A voice of noise from the city, a voice from the temple, a voice of the LORD that rendereth recompence to his enemies. %%% Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga, eddoboozi eriva mu yeekaalu, eddoboozi lya Mukama asasula abalabe be empeera. 23ISA066.007 Before she travailed, she brought forth; before her pain came, she was delivered of a man child. %%% Yali nga tannalumwa n'azaala; obubalagaze bwe bwali nga tebunnatuuka n'azaala omwana wa bulenzi. 23ISA066.008 Who hath heard such a thing? who hath seen such things? Shall the earth be made to bring forth in one day? or shall a nation be born at once? for as soon as Zion travailed, she brought forth her children. %%% Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be. 23ISA066.009 Shall I bring to the birth, and not cause to bring forth? saith the LORD: shall I cause to bring forth, and shut the womb? saith thy God. %%% Ndituusa okuzaalwa ne ssizaaza? bw'ayogera Mukama: nze azaaza ndiggala olubuto? bw'ayogera Katonda wo. 23ISA066.010 Rejoice ye with Jerusalem, and be glad with her, all ye that love her: rejoice for joy with her, all ye that mourn for her: %%% Musanyukire wamu ne Yerusaalemi, mujaguze ku lulwe, mmwe mwenna abamwagala: musanyukire wamu naye olw'essanyu, mmwe mwenna abamukaabirira: 23ISA066.011 That ye may suck, and be satisfied with the breasts of her consolations; that ye may milk out, and be delighted with the abundance of her glory. %%% mulyoke muyonke mukkute amabeere ge agasanyusa; mulamule mumalemu musanyukire ekitiibwa kye ekisukkirivu. 23ISA066.012 For thus saith the LORD, Behold, I will extend peace to her like a river, and the glory of the Gentiles like a flowing stream: then shall ye suck, ye shall be borne upon her sides, and be dandled upon her knees. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga, n’ekitiibwa ky'amawanga ng'omugga ogwanjaala, nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi, era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi. 23ISA066.013 As one whom his mother comforteth, so will I comfort you; and ye shall be comforted in Jerusalem. %%% Ng'omuntu nnyina gw'asanyusa, bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe; ne musanyusibwa mu Yerusaalemi. 23ISA066.014 And when ye see this, your heart shall rejoice, and your bones shall flourish like an herb: and the hand of the LORD shall be known toward his servants, and his indignation toward his enemies. %%% Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu: n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be. 23ISA066.015 For, behold, the LORD will come with fire, and with his chariots like a whirlwind, to render his anger with fury, and his rebuke with flames of fire. %%% Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro, n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu; okusasula obusungu bwe n'ekiruyi, n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro. 23ISA066.016 For by fire and by his sword will the LORD plead with all flesh: and the slain of the LORD shall be many. %%% Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna abalina omubiri: era Mukama b'alitta baliba bangi. 23ISA066.017 They that sanctify themselves, and purify themselves in the gardens behind one tree in the midst, eating swine's flesh, and the abomination, and the mouse, shall be consumed together, saith the LORD. %%% Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, ennyuma w'omu ali wakati, nga balya ennyama embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama. 23ISA066.018 For I know their works and their thoughts: it shall come, that I will gather all nations and tongues; and they shall come, and see my glory. %%% Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe: ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange. 23ISA066.019 And I will set a sign among them, and I will send those that escape of them unto the nations, to Tarshish, Pul, and Lud, that draw the bow, to Tubal, and Javan, to the isles afar off, that have not heard my fame, neither have seen my glory; and they shall declare my glory among the Gentiles. %%% Era nditeeka akabonero mu bo, n'abo abawona ku bo ndibatuma mu mawanga, eri Talusiisi, Puuli ne Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga ebiri ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, so tebalabanga kitiibwa kyange; kale balibuulira amawanga ekitiibwa kyange. 23ISA066.020 And they shall bring all your brethren for an offering unto the LORD out of all nations upon horses, and in chariots, and in litters, and upon mules, and upon swift beasts, to my holy mountain Jerusalem, saith the LORD, as the children of Israel bring an offering in a clean vessel into the house of the LORD. %%% Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama. 23ISA066.021 And I will also take of them for priests and for Levites, saith the LORD. %%% Era nditwala ne ku bo okuba bakabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama. 23ISA066.022 For as the new heavens and the new earth, which I will make, shall remain before me, saith the LORD, so shall your seed and your name remain. %%% Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe birisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe. 23ISA066.023 And it shall come to pass, that from one new moon to another, and from one sabbath to another, shall all flesh come to worship before me, saith the LORD. %%% Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku ssabbiiti okutuusa ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama. 23ISA066.024 And they shall go forth, and look upon the carcases of the men that have transgressed against me: for their worm shall not die, neither shall their fire be quenched; and they shall be an abhorring unto all flesh. %%%a Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri. 24JER001.001 The words of Jeremiah the son of Hilkiah, of the priests that were in Anathoth in the land of Benjamin: %%% Ebigambo bya Yeremiya mutabani wa Kirukiya ow'oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini: 24JER001.002 To whom the word of the LORD came in the days of Josiah the son of Amon king of Judah, in the thirteenth year of his reign. %%% eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogw'okufuga kwe. 24JER001.003 It came also in the days of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah, unto the end of the eleventh year of Zedekiah the son of Josiah king of Judah, unto the carrying away of Jerusalem captive in the fifth month. %%% Era kyajjira ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi na gumu ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda: okutuusa ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano. 24JER001.004 Then the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti 24JER001.005 Before I formed thee in the belly I knew thee; and before thou camest forth out of the womb I sanctified thee, and I ordained thee a prophet unto the nations. %%% Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga. 24JER001.006 Then said I, Ah, Lord GOD! behold, I cannot speak: for I am a child. %%% Awo nze ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto. 24JER001.007 But the LORD said unto me, Say not, I am a child: for thou shalt go to all that I shall send thee, and whatsoever I command thee thou shalt speak. %%% Naye Mukama n'aŋŋamba nti Toyogera nti Ndi mwana muto: kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy'onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky'onooyogeranga. 24JER001.008 Be not afraid of their faces: for I am with thee to deliver thee, saith the LORD. %%% Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama. 24JER001.009 Then the LORD put forth his hand, and touched my mouth. And the LORD said unto me, Behold, I have put my words in thy mouth. %%% Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akoma ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko: 24JER001.010 See, I have this day set thee over the nations and over the kingdoms, to root out, and to pull down, and to destroy, and to throw down, to build, and to plant. %%% laba, leero nkutaddewo okuba omukulu w'amawanga era ow'amatwale ga bakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza n'okusuula; okuzimba n'okusimba. 24JER001.011 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, Jeremiah, what seest thou? And I said, I see a rod of an almond tree. %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti Yeremiya, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba omuggo ogw'omulozi. 24JER001.012 Then said the LORD unto me, Thou hast well seen: for I will hasten my word to perform it. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olabye bulungi: kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza. 24JER001.013 And the word of the LORD came unto me the second time, saying, What seest thou? And I said, I see a seething pot; and the face thereof is toward the north. %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw'okubiri nga kyogera nti Olaba ki? Ne njogera nti Ndaba entamu eyeesera; n'amaaso gaayo gayima obukiika obwa kkono. 24JER001.014 Then the LORD said unto me, Out of the north an evil shall break forth upon all the inhabitants of the land. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Okuyima obukiika obwa kkono obubi bulifubutukira ku bonna abali mu nsi. 24JER001.015 For, lo, I will call all the families of the kingdoms of the north, saith the LORD; and they shall come, and they shall set every one his throne at the entering of the gates of Jerusalem, and against all the walls thereof round about, and against all the cities of Judah. %%% Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka b'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda. 24JER001.016 And I will utter my judgments against them touching all their wickedness, who have forsaken me, and have burned incense unto other gods, and worshipped the works of their own hands. %%% Era ndyatula emisango gyange eri bo olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza emirimu egy'engalo zaabwe bo. 24JER001.017 Thou therefore gird up thy loins, and arise, and speak unto them all that I command thee: be not dismayed at their faces, lest I confound thee before them. %%% Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira: tokeŋŋentererwanga eri bo, nneme okukukeŋŋenterera mu maaso gaabwe. 24JER001.018 For, behold, I have made thee this day a defenced city, and an iron pillar, and brasen walls against the whole land, against the kings of Judah, against the princes thereof, against the priests thereof, and against the people of the land. %%% Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu ab'omu nsi. 24JER001.019 And they shall fight against thee; but they shall not prevail against thee; for I am with thee, saith the LORD, to deliver thee. %%% Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukuwonya. 24JER002.001 Moreover the word of the LORD came to me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 24JER002.002 Go and cry in the ears of Jerusalem, saying, Thus saith the LORD; I remember thee, the kindness of thy youth, the love of thine espousals, when thou wentest after me in the wilderness, in a land that was not sown. %%% Genda oyogerere waggulu mu matu ga Yerusaalemi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkujjuukirira ku kisa eky'omu buto bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisige. 24JER002.003 Israel was holiness unto the LORD, and the firstfruits of his increase: all that devour him shall offend; evil shall come upon them, saith the LORD. %%% Isiraeri yali butukuvu eri Mukama, ebibala ebibereberye eby'oku kyengera kye: bonna abamulya baliyitibwa abazzizza omusango: obubi bulibatuukako, bw'ayogera Mukama. 24JER002.004 Hear ye the word of the LORD, O house of Jacob, and all the families of the house of Israel: %%% Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe ennyumba ya Yakobo, n'ebika byonna eby'ennyumba ya Isiraeri: 24JER002.005 Thus saith the LORD, What iniquity have your fathers found in me, that they are gone far from me, and have walked after vanity, and are become vain? %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Butali butuukirivu ki bajjajjammwe bwe baalaba mu nze n'okugenda bagenze wala okunvaako, ne batambula okugoberera obutaliimu ne bafuuka abataliimu? 24JER002.006 Neither said they, Where is the LORD that brought us up out of the land of Egypt, that led us through the wilderness, through a land of deserts and of pits, through a land of drought, and of the shadow of death, through a land that no man passed through, and where no man dwelt? %%% So tebayogera nti Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gy'atayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera? 24JER002.007 And I brought you into a plentiful country, to eat the fruit thereof and the goodness thereof; but when ye entered, ye defiled my land, and made mine heritage an abomination. %%% Ne mbaleeta mu nsi ey'ekyengera, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu; naye bwe mwayingira ne mwonoona ensi yange, ne mufuula obusika bwange okuba omuzizo. 24JER002.008 The priests said not, Where is the LORD? and they that handle the law knew me not: the pastors also transgressed against me, and the prophets prophesied by Baal, and walked after things that do not profit. %%% Bakabona tebayogera nti Mukama ali ludda wa? n'abo abatogaatoga amateeka tebammanya: era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne balagula ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitaliiko kye bigasa. 24JER002.009 Wherefore I will yet plead with you, saith the LORD, and with your children's children will I plead. %%% Kyennaava neeyongera okuwoza nammwe, bw'ayogera Mukama, era ndiwoza n'abaana b'abaana bammwe. 24JER002.010 For pass over the isles of Chittim, and see; and send unto Kedar, and consider diligently, and see if there be such a thing. %%% Kubanga muwunguke mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; mutume e Kedali, mwetegereze nnyo; mulabe oba nga waali wabaddewo ekigambo ekyenkana awo. 24JER002.011 Hath a nation changed their gods, which are yet no gods? but my people have changed their glory for that which doth not profit. %%% Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baabwe, abatali bakatonda naye? naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitaliiko kye kigasa. 24JER002.012 Be astonished, O ye heavens, at this, and be horribly afraid, be ye very desolate, saith the LORD. %%% Samaaliririra ekyo, ggwe eggulu, otye ekitatiika, owuubaale nnyo, bw'ayogera Mukama. 24JER002.013 For my people have committed two evils; they have forsaken me the fountain of living waters, and hewed them out cisterns, broken cisterns, that can hold no water. %%% Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri; bandese nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ttanka z'omu ttaka, ebitayinza kubaamu mazzi. 24JER002.014 Is Israel a servant? is he a homeborn slave? why is he spoiled? %%% Isiraeri muddu? muddu eyazaalibwa mu nnyumba? kiki ekimufudde omuyiggo? 24JER002.015 The young lions roared upon him, and yelled, and they made his land waste: his cities are burned without inhabitant. %%% Empologoma ento zimuwulugumiddeko ne zivuuma: ne zizisa ensi ye; ebibuga bye byokereddwa ddala awatali abituulamu. 24JER002.016 Also the children of Noph and Tahapanes have broken the crown of thy head. %%% Era abaana ba Noofu ne Tapanesi bamenye obwezinge bwo. 24JER002.017 Hast thou not procured this unto thyself, in that thou hast forsaken the LORD thy God, when he led thee by the way? %%% Teweereeseeko ekyo kubanga olese Mukama Katonda wo, bwe yakuluŋŋamiza mu kkubo? 24JER002.018 And now what hast thou to do in the way of Egypt, to drink the waters of Sihor? or what hast thou to do in the way of Assyria, to drink the waters of the river? %%% Kale nno ofaayo ki mu kkubo erigenda e Misiri okunywa amazzi ga Sikoli? oba ofaayo ki mu kkubo erigenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga? 24JER002.019 Thine own wickedness shall correct thee, and thy backslidings shall reprove thee: know therefore and see that it is an evil thing and bitter, that thou hast forsaken the LORD thy God, and that my fear is not in thee, saith the Lord GOD of hosts. %%% Obubi bwo ggwe bulikubuulirira, n'okuseeseetuka kwo kulikunenya: kale manya olabe nga kigambo kibi era kya bubalagaze, kubanga olese Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. 24JER002.020 For of old time I have broken thy yoke, and burst thy bands; and thou saidst, I will not transgress; when upon every high hill and under every green tree thou wanderest, playing the harlot. %%% Kubanga obw'edda namenya ekikoligo kyo, ne nkutula ebisiba byo; n'oyogera nti Sijja kuweereza; kubanga wakutama ku buli lusozi oluwamvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi. 24JER002.021 Yet I had planted thee a noble vine, wholly a right seed: how then art thou turned into the degenerate plant of a strange vine unto me? %%% Era naye nali nkusimbye muzabbibu mulungi, ensigo ey'amazima ameereere: kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw'omuzabbibu ogw'omu kibira? 24JER002.022 For though thou wash thee with nitre, and take thee much soap, yet thine iniquity is marked before me, saith the Lord GOD. %%% Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange, bw'ayogera Mukama Katonda. 24JER002.023 How canst thou say, I am not polluted, I have not gone after Baalim? see thy way in the valley, know what thou hast done: thou art a swift dromedary traversing her ways; %%% Oyinza otya okwogera nti Soonoonese, siigobereranga Babaali? laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro ng'eyitaayita mu makubo gaayo; 24JER002.024 A wild ass used to the wilderness, that snuffeth up the wind at her pleasure; in her occasion who can turn her away? all they that seek her will not weary themselves; in her month they shall find her. %%% entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo. 24JER002.025 Withhold thy foot from being unshod, and thy throat from thirst: but thou saidst, There is no hope: no; for I have loved strangers, and after them will I go. %%% Ziyiza ekigere kyo oleme okuba atalina ngatto, n'omumiro gwo oleme okulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti Tewali ssuubi nedda; kubanga njagadde bannaggwanga, era be ndigoberera. 24JER002.026 As the thief is ashamed when he is found, so is the house of Israel ashamed; they, their kings, their princes, and their priests, and their prophets, %%% Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi bw'alabika, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'eti; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe; 24JER002.027 Saying to a stock, Thou art my father; and to a stone, Thou hast brought me forth: for they have turned their back unto me, and not their face: but in the time of their trouble they will say, Arise, and save us. %%% abagamba ekikonge nti Ggwe kitange; n'ejjinja nti Ggwe onzaala: kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe: naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nti Golokoka otulokole. 24JER002.028 But where are thy gods that thou hast made thee? let them arise, if they can save thee in the time of thy trouble: for according to the number of thy cities are thy gods, O Judah. %%% Naye ba katonda bo be weekoledde bali ludda wa? bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku: kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, gwe Yuda. 24JER002.029 Wherefore will ye plead with me? ye all have transgressed against me, saith the LORD. %%% Kiki ekibaagaza okuwoza nange? mwenna munsobezza, bw'ayogera Mukama. 24JER002.030 In vain have I smitten your children; they received no correction: your own sword hath devoured your prophets, like a destroying lion. %%% Abaana bammwe mbakubidde bwereere; tebaganyizza kubuulirirwa: ekitala kyammwe mmwe kimazeewo bannabbi bammwe ng'empologoma ezikiriza. 24JER002.031 O generation, see ye the word of the LORD. Have I been a wilderness unto Israel? a land of darkness? wherefore say my people, We are lords; we will come no more unto thee? %%% Mmwe ab'omu mirembe gino, mulabe ekigambo kya Mukama. Naabanga ddungu eri Isiraeri? oba nsi ya kizikiza ekikutte? abantu bange ekiboogeza ki nti Tutaaluuse; tetukyajja gy'oli nate? 24JER002.032 Can a maid forget her ornaments, or a bride her attire? yet my people have forgotten me days without number. %%% Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby'obuyonjo, oba omugole ebyambalo bye? naye abantu bange banneerabidde ennaku nnyingi ezitabalika. 24JER002.033 Why trimmest thou thy way to seek love? therefore hast thou also taught the wicked ones thy ways. %%% Ng'olongoosa ekkubo lyo okunoonya okwagalibwa! kyovudde oyiiriza n'abakazi ababi amakubo go. 24JER002.034 Also in thy skirts is found the blood of the souls of the poor innocents: I have not found it by secret search, but upon all these. %%% Era ku birenge byo kulabise omusaayi gw'emmeeme z'abaavu abataliiko musango: sigulabye mu kituli ekisimibwa wabula ku bino byonna. 24JER002.035 Yet thou sayest, Because I am innocent, surely his anger shall turn from me. Behold, I will plead with thee, because thou sayest, I have not sinned. %%% Era naye n'oyogera nti Siriiko musango; mazima obusungu bwe bukyuse okunvaako. Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti Soonoonanga. 24JER002.036 Why gaddest thou about so much to change thy way? thou also shalt be ashamed of Egypt, as thou wast ashamed of Assyria. %%% Otambuliratambulira ki ennyo bw'otyo okuwaayisa ekkubo lyo? era olikwatibwa ensonyi ne ku lwa Misiri, nga bwe wakwatibwa ensonyi ku lwa Bwasuli. 24JER002.037 Yea, thou shalt go forth from him, and thine hands upon thine head: for the LORD hath rejected thy confidences, and thou shalt not prosper in them. %%% Era ne gy'ali olivaayo nga weetisse emikono: kubanga Mukama agaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo. 24JER003.001 They say, If a man put away his wife, and she go from him, and become another man's, shall he return unto her again? shall not that land be greatly polluted? but thou hast played the harlot with many lovers; yet return again to me, saith the LORD. %%% Boogera nti Omusajja bw'agoba mukazi we, naye n'amuvaako n'aba ow'omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? ensi yo teryonooneka nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo bangi; era naye nzirira nate, bw'ayogera Mukama. 24JER003.002 Lift up thine eyes unto the high places, and see where thou hast not been lien with. In the ways hast thou sat for them, as the Arabian in the wilderness; and thou hast polluted the land with thy whoredoms and with thy wickedness. %%% Yimusa amaaso go eri ensozi ez'obweru olabe; we batasulira naawe wa? Wabatuulirira ku mabbali g'ekkubo, ng'Omuwalabu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo. 24JER003.003 Therefore the showers have been withholden, and there hath been no latter rain; and thou hadst a whore's forehead, thou refusedst to be ashamed. %%% Empandaggirize kyezivudde ziziyizibwa, so tewabaddeewo ttoggo; era naye n'oba n'ekyenyi eky'omwenzi, wagaana okukwatibwa ensonyi. 24JER003.004 Wilt thou not from this time cry unto me, My father, thou art the guide of my youth? %%% Tonkaabirenga okuva leero nti Kitange, ggwe musaale w'obuto bwange? 24JER003.005 Will he reserve his anger for ever? will he keep it to the end? Behold, thou hast spoken and done evil things as thou couldest. %%% Aliguguba n'obusungu bwe emirembe gyonna? aliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n'okola ebigambo ebibi, n'okwata ekkubo lyo ggwe. 24JER003.006 The LORD said also unto me in the days of Josiah the king, Hast thou seen that which backsliding Israel hath done? she is gone up upon every high mountain and under every green tree, and there hath played the harlot. %%% Era nate Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi. 24JER003.007 And I said after she had done all these things, Turn thou unto me. But she returned not. And her treacherous sister Judah saw it. %%% Ne njogera bwe yamala okukola ebyo byonna nti Alinzirira; naye n'atadda: ne mwannyina ow'enkwe Yuda n'akiraba. 24JER003.008 And I saw, when for all the causes whereby backsliding Israel committed adultery I had put her away, and given her a bill of divorce; yet her treacherous sister Judah feared not, but went and played the harlot also. %%% Ne ndaba, bwe nnamala okugoba Isiraeri eyaseeseetuka ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba olw'ensonga eno kubanga ayenze, era naye Yuda ow'enkwe mwannyina n'atatya; naye era naye n'agenda ne yeefuula omwenzi. 24JER003.009 And it came to pass through the lightness of her whoredom, that she defiled the land, and committed adultery with stones and with stocks. %%% Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda ensi n'eyonooneka, n'ayenda ku mayinja n'ebikonge. 24JER003.010 And yet for all this her treacherous sister Judah hath not turned unto me with her whole heart, but feignedly, saith the LORD. %%% Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow'enkwe Yuda tanziridde n'omutima gwe gwonna, naye ng'akuusakuusa, bw'ayogera Mukama. 24JER003.011 And the LORD said unto me, The backsliding Israel hath justified herself more than treacherous Judah. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Isiraeri eyaseeseetuka yeeraze okuba omutuukirivu okukira Yuda ow'enkwe. 24JER003.012 Go and proclaim these words toward the north, and say, Return, thou backsliding Israel, saith the LORD; and I will not cause mine anger to fall upon you: for I am merciful, saith the LORD, and I will not keep anger for ever. %%% Genda olangire ebigambo bino ng'otunuulira obukiika obwa kkono, oyogere nti Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka, bw'ayogera Mukama; siibatunuulire n'obusungu: kubanga nnina okusaasira, bw'ayogera Mukama, siriguguba na busungu emirembe gyonna. 24JER003.013 Only acknowledge thine iniquity, that thou hast transgressed against the LORD thy God, and hast scattered thy ways to the strangers under every green tree, and ye have not obeyed my voice, saith the LORD. %%% Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n'osaasaanyiza amakubo go abagenyi wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange, bw'ayogera Mukama. 24JER003.014 Turn, O backsliding children, saith the LORD; for I am married unto you: and I will take you one of a city, and two of a family, and I will bring you to Zion: %%% Komawo, mmwe abaana abadda ennyuma, bw'ayogera Mukama; kubanga nze bbammwe: era ndibatwala nga nziya omu ku kibuga n'ababiri ku kika, ne mbaleeta e Sayuuni: 24JER003.015 And I will give you pastors according to mine heart, which shall feed you with knowledge and understanding. %%% era ndibawa abasumba ng'omutima gwange bwe guli abalibaliisa n'okumanya n'okutegeera. 24JER003.016 And it shall come to pass, when ye be multiplied and increased in the land, in those days, saith the LORD, they shall say no more, The ark of the covenant of the LORD: neither shall it come to mind: neither shall they remember it; neither shall they visit it; neither shall that be done any more. %%% Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti Essanduuko ey'endagaano ya Mukama; so teriyingira mu mwoyo gwabwe; so tebaligijjukira; so tebaligikyalira; so tebalikola nate bwe batyo. 24JER003.017 At that time they shall call Jerusalem the throne of the LORD; and all the nations shall be gathered unto it, to the name of the LORD, to Jerusalem: neither shall they walk any more after the imagination of their evil heart. %%% Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi: so tebalitambula nate ng'obukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi bwe buli. 24JER003.018 In those days the house of Judah shall walk with the house of Israel, and they shall come together out of the land of the north to the land that I have given for an inheritance unto your fathers. %%% Mu biro ebyo ennyumba ya Yuda eritambulira wamu n'ennyumba ya Isiraeri, era baliviira wamu mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne bayingira mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba obusika. 24JER003.019 But I said, How shall I put thee among the children, and give thee a pleasant land, a goodly heritage of the hosts of nations? and I said, Thou shalt call me, My father; and shalt not turn away from me. %%% Naye ne njogera nti Ndikuteeka ntya mu baana, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu ggye ly'amawanga? ne njogera nti Mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera. 24JER003.020 Surely as a wife treacherously departeth from her husband, so have ye dealt treacherously with me, O house of Israel, saith the LORD. %%% Mazima omukazi nga bw'ava ku bba ng'asala olukwe, bwe mutyo nammwe bwe munsalidde enkwe, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama. 24JER003.021 A voice was heard upon the high places, weeping and supplications of the children of Israel: for they have perverted their way, and they have forgotten the LORD their God. %%% Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi ez'obweru, okukaaba n'okwegayirira kw'abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe. 24JER003.022 Return, ye backsliding children, and I will heal your backslidings. Behold, we come unto thee; for thou art the LORD our God. %%% Mukomeewo, mmwe abaana abaseeseetuse, naawonya okuseeseetuka kwammwe. Laba, tuzze gy'oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe. 24JER003.023 Truly in vain is salvation hoped for from the hills, and from the multitude of mountains: truly in the LORD our God is the salvation of Israel. %%% Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, oluyoogaano oluli ku nsozi: mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri. 24JER003.024 For shame hath devoured the labour of our fathers from our youth; their flocks and their herds, their sons and their daughters. %%% Naye ekyo ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe; embuzi zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe n'abawala baabwe. 24JER003.025 We lie down in our shame, and our confusion covereth us: for we have sinned against the LORD our God, we and our fathers, from our youth even unto this day, and have not obeyed the voice of the LORD our God. %%% Tugalamire ensonyi nga zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko: kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero: so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe. 24JER004.001 If thou wilt return, O Israel, saith the LORD, return unto me: and if thou wilt put away thine abominations out of my sight, then shalt thou not remove. %%% Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda: era bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka; 24JER004.002 And thou shalt swear, The LORD liveth, in truth, in judgment, and in righteousness; and the nations shall bless themselves in him, and in him shall they glory. %%% awo olirayiranga nti Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga. 24JER004.003 For thus saith the LORD to the men of Judah and Jerusalem, Break up your fallow ground, and sow not among thorns. %%% Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa. 24JER004.004 Circumcise yourselves to the LORD, and take away the foreskins of your heart, ye men of Judah and inhabitants of Jerusalem: lest my fury come forth like fire, and burn that none can quench it, because of the evil of your doings. %%% Mwekomole eri Mukama, muggyewo ebikuta eby'emitima gyammwe, mmwe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi: ekiruyi kyange kireme okufuluma ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza olw'obubi obw'ebikolwa byammwe. 24JER004.005 Declare ye in Judah, and publish in Jerusalem; and say, Blow ye the trumpet in the land: cry, gather together, and say, Assemble yourselves, and let us go into the defenced cities. %%% Mulangirire mu Yuda, mulaalike mu Yerusaalemi; mwogere nti Mufuuwe ekkondeere mu nsi; mwogerere waggulu mwogere nti Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera. 24JER004.006 Set up the standard toward Zion: retire, stay not: for I will bring evil from the north, and a great destruction. %%% Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni: mudduke muwone, temulwawo: kubanga ndireeta obubi obuliva obukiika obwa kkono n'okuzikiriza okunene. 24JER004.007 The lion is come up from his thicket, and the destroyer of the Gentiles is on his way; he is gone forth from his place to make thy land desolate; and thy cities shall be laid waste, without an inhabitant. %%% Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo babizise obutabaamu abibeeramu. 24JER004.008 For this gird you with sackcloth, lament and howl: for the fierce anger of the LORD is not turned back from us. %%% Olwekyo mwambale ebibukutu, mukungubage muwowoggane: kubanga ekiruyi kya Mukama tekikyuse okutuvaako. 24JER004.009 And it shall come to pass at that day, saith the LORD, that the heart of the king shall perish, and the heart of the princes; and the priests shall be astonished, and the prophets shall wonder. %%% Awo olutituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya. 24JER004.010 Then said I, Ah, Lord GOD! surely thou hast greatly deceived this people and Jerusalem, saying, Ye shall have peace; whereas the sword reacheth unto the soul. %%% Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti Muliba n'emirembe; naye ekitala kituuka ku mmeeme. 24JER004.011 At that time shall it be said to this people and to Jerusalem, A dry wind of the high places in the wilderness toward the daughter of my people, not to fan, nor to cleanse, %%% Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti Embuyaga ez'olubugumu eziva ku nsozi ez'obweru mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa; 24JER004.012 Even a full wind from those places shall come unto me: now also will I give sentence against them. %%% embuyaga nnyingi eziva ku ezo zirijja ku lwange: kaakano nange naayogera emisango ku bo. 24JER004.013 Behold, he shall come up as clouds, and his chariots shall be as a whirlwind: his horses are swifter than eagles. Woe unto us! for we are spoiled. %%% Laba, alirinnya ng'ebire, n'amagaali ge galiba ng'empewo ez'akazimu: embalaasi ze za mbiro okukira empungu. Zitusanze! kubanga tunyagiddwa. 24JER004.014 O Jerusalem, wash thine heart from wickedness, that thou mayest be saved. How long shall thy vain thoughts lodge within thee? %%% Ai Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu obubi, olyoke olokoke. Ebirowoozo byo ebibi birituusa wa okubeera mu nda yo? 24JER004.015 For a voice declareth from Dan, and publisheth affliction from mount Ephraim. %%% Kubanga eddoboozi lirangirira nga liyima e Ddaani, era liraalika obubi nga liyima ku nsozi za Efulayimu: 24JER004.016 Make ye mention to the nations; behold, publish against Jerusalem, that watchers come from a far country, and give out their voice against the cities of Judah. %%% mubuulire amawanga; laba, mulaalike eri Yerusaalemi ng'abakuumi bava mu nsi ey'ewala ne balangirira ebibuga bya Yuda n'eddoboozi lyabwe. 24JER004.017 As keepers of a field, are they against her round about; because she hath been rebellious against me, saith the LORD. %%% Bakyetoolodde enjuyi zonna ng'abakuuma ennimiro; kubanga kyanjeemera, bw'ayogera Mukama. 24JER004.018 Thy way and thy doings have procured these things unto thee; this is thy wickedness, because it is bitter, because it reacheth unto thine heart. %%% Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikufunidde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo. 24JER004.019 My bowels, my bowels! I am pained at my very heart; my heart maketh a noise in me; I cannot hold my peace, because thou hast heard, O my soul, the sound of the trumpet, the alarm of war. %%% Emmeeme yange, emmeeme yange! omutima gwange gunnuma munda mwennyini; omutima gwange gweraliikiridde mu nze; siyinza kusirika; kubanga owulidde, ai emmeeme yange, eddoboozi ly'ekkondeere, nga liraye. 24JER004.020 Destruction upon destruction is cried; for the whole land is spoiled: suddenly are my tents spoiled, and my curtains in a moment. %%% Okuzikirizibwa okuli kungulu w'okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna enyagiddwa: eweema zange zinyagiddwa nga simanyiridde, n'amagigi gange mu kaseera kamu. 24JER004.021 How long shall I see the standard, and hear the sound of the trumpet? %%% Ndituusa wa okulaba ebendera ne mpulira eddoboozi ly'ekkondeere? 24JER004.022 For my people is foolish, they have not known me; they are sottish children, and they have none understanding: they are wise to do evil, but to do good they have no knowledge. %%% Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole bya baana, so tebalina kutegeera: ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya. 24JER004.023 I beheld the earth, and, lo, it was without form, and void; and the heavens, and they had no light. %%% Nalaba ensi, era, laba, nga njereere nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga temuli musana. 24JER004.024 I beheld the mountains, and, lo, they trembled, and all the hills moved lightly. %%% Nalaba ensozi, era, laba, nga zikankana, obusozi bwonna ne buyuuguuma eruuyi n'eruuyi. 24JER004.025 I beheld, and, lo, there was no man, and all the birds of the heavens were fled. %%% Natunula, era, laba, nga tewali muntu, n'ennyonyi zonna ez'omu bbanga nga zidduse. 24JER004.026 I beheld, and, lo, the fruitful place was a wilderness, and all the cities thereof were broken down at the presence of the LORD, and by his fierce anger. %%% Natunula, era, laba, ennimiro eŋŋimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga bimenyesemenyese, olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye. 24JER004.027 For thus hath the LORD said, The whole land shall be desolate; yet will I not make a full end. %%% Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ensi yonna eriba nsiko; naye sirikomekkerereza ddala. 24JER004.028 For this shall the earth mourn, and the heavens above be black: because I have spoken it, I have purposed it, and will not repent, neither will I turn back from it. %%% Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala: kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sejjusizza, so siridda nnyuma okukireka. 24JER004.029 The whole city shall flee for the noise of the horsemen and bowmen; they shall go into thickets, and climb up upon the rocks: every city shall be forsaken, and not a man dwell therein. %%% Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo. 24JER004.030 And when thou art spoiled, what wilt thou do? Though thou clothest thyself with crimson, though thou deckest thee with ornaments of gold, though thou rentest thy face with painting, in vain shalt thou make thyself fair; thy lovers will despise thee, they will seek thy life. %%% Naawe bw'olinyagibwa olikola otya? Newakubadde ng'oyambala olugoye olutwakaavu, newakubadde nga weeyonja n'ebintu ebya zaabu, newakubadde ng'ogaziya amaaso go nga weesiigako eddagala, weefuulira bwereere omulungi: baganzi bo bakunyooma, banoonya obulamu bwo. 24JER004.031 For I have heard a voice as of a woman in travail, and the anguish as of her that bringeth forth her first child, the voice of the daughter of Zion, that bewaileth herself, that spreadeth her hands, saying, Woe is me now! for my soul is wearied because of murderers. %%% Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni alaakiira, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi. 24JER005.001 Run ye to and fro through the streets of Jerusalem, and see now, and know, and seek in the broad places thereof, if ye can find a man, if there be any that executeth judgment, that seeketh the truth; and I will pardon it. %%% Muddukane eruuyi n'eruuyi mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale naakisonyiwa. 24JER005.002 And though they say, The LORD liveth; surely they swear falsely. %%% Era ne bwe boogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, mazima balayira bya bulimba. 24JER005.003 O LORD, are not thine eyes upon the truth? thou hast stricken them, but they have not grieved; thou hast consumed them, but they have refused to receive correction: they have made their faces harder than a rock; they have refused to return. %%% Ai Mukama, amaaso go tegatunuulira mazima? obakubye, naye ne batanakuwala; obamazeewo, naye bagaanyi okubuulirirwa: bakakanyazizza amaaso gaabwe okukira olwazi; bagaanyi okudda. 24JER005.004 Therefore I said, Surely these are poor; they are foolish: for they know not the way of the LORD, nor the judgment of their God. %%% Awo ne njogera nti Mazima bano baavu: basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde omusango gwa Katonda waabwe: 24JER005.005 I will get me unto the great men, and will speak unto them; for they have known the way of the LORD, and the judgment of their God: but these have altogether broken the yoke, and burst the bonds. %%% neegendera eri abakulu ne njogera nabo; kubanga bo bamanyi ekkubo lya Mukama, n'omusango gwa Katonda waabwe. Naye abo bamenye ekikoligo n'omwoyo gumu ne bakutula ebisiba. 24JER005.006 Wherefore a lion out of the forest shall slay them, and a wolf of the evenings shall spoil them, a leopard shall watch over their cities: every one that goeth out thence shall be torn in pieces: because their transgressions are many, and their backslidings are increased. %%% Empologoma eva mu kibira kyeriva ebatta,omusege ogw'ekiro gulibanyaga, engo eriteegera mu bibuga byabwe, buli muntu ava omwo anaataagulwataagulwanga: kubanga okusobya kwabwe kungi n'okuseeseetuka kwabwe kweyongedde. 24JER005.007 How shall I pardon thee for this? thy children have forsaken me, and sworn by them that are no gods: when I had fed them to the full, they then committed adultery, and assembled themselves by troops in the harlots' houses. %%% Nnyinza ntya okukusonyiwa? abaana bo banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda: bwe nabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi ebibiina. 24JER005.008 They were as fed horses in the morning: every one neighed after his neighbour's wife. %%% Baali ng'embalaasi ezaaliisibwa enkya: buli muntu ng'abebera mukazi wa munne. 24JER005.009 Shall I not visit for these things? saith the LORD: and shall not my soul be avenged on such a nation as this? %%% Siribonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: era emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo? 24JER005.010 Go ye up upon her walls, and destroy; but make not a full end: take away her battlements; for they are not the LORD's. %%% Mulinnye ku bbugwe waakyo, muzikirize; naye temukomekkerereza ddala: muggyeewo amatabi gaakyo: kubanga si ga Mukama. 24JER005.011 For the house of Israel and the house of Judah have dealt very treacherously against me, saith the LORD. %%% Kubanga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bankuusizzakuusizza nnyo nnyini, bw'ayogera Mukama. 24JER005.012 They have belied the LORD, and said, It is not he; neither shall evil come upon us; neither shall we see sword nor famine: %%% Beegaanyi Mukama ne boogera nti Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala ewakubadde enjala: 24JER005.013 And the prophets shall become wind, and the word is not in them: thus shall it be done unto them. %%% ne bannabi balifuuka mpewo, so n'ekigambo tekiri mu bo: bwe balikolebwa bwe batyo. 24JER005.014 Wherefore thus saith the LORD God of hosts, Because ye speak this word, behold, I will make my words in thy mouth fire, and this people wood, and it shall devour them. %%% Mukama Katonda ow'egye kyava ayogera nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano kuba enku, era gulibookya. 24JER005.015 Lo, I will bring a nation upon you from far, O house of Israel, saith the LORD: it is a mighty nation, it is an ancient nation, a nation whose language thou knowest not, neither understandest what they say. %%% Laba, ndireeta ku mmwe eggwaga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama: ggwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko olulimi lwalyo so totegeera bye boogera. 24JER005.016 Their quiver is as an open sepulchre, they are all mighty men. %%% Omufuko gwabwe ntaana eyasaamiridde, bonna basajja ba maanyi. 24JER005.017 And they shall eat up thine harvest, and thy bread, which thy sons and thy daughters should eat: they shall eat up thy flocks and thine herds: they shall eat up thy vines and thy fig trees: they shall impoverish thy fenced cities, wherein thou trustedst, with the sword. %%% Era balirya ebikungulwa byo n'emmere yo, batabani bo ne bawala bo bye bandiridde: balirya embuzi zo n'ente zo: balrya emizabbibu gyo n'emitiini gyo: balimenyaamenya n'ekitala ebibuga byo ebiriko enkomera bye weesiga. 24JER005.018 Nevertheless in those days, saith the LORD, I will not make a full end with you. %%% Era naye ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, sirikomekkerereza dala gye muli. 24JER005.019 And it shall come to pass, when ye shall say, Wherefore doeth the LORD our God all these things unto us? then shalt thou answer them, Like as ye have forsaken me, and served strange gods in your land, so shall ye serve strangers in a land that is not yours. %%% Awo olulituuka bwe mulyogera nti Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe ebyo byonna? kale n'olyoka obagamba nti Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda bannaggwanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannaggwanga mu nsi eteri yammwe. 24JER005.020 Declare this in the house of Jacob, and publish it in Judah, saying, %%% Mubuulirire kino mu nnyumba ya Yakobo, mukirangirire mu Yuda, nti 24JER005.021 Hear now this, O foolish people, and without understanding; which have eyes, and see not; which have ears, and hear not: %%% Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso ne mutalaba; abalina amatu ne mutawulira: 24JER005.022 Fear ye not me? saith the LORD: will ye not tremble at my presence, which have placed the sand for the bound of the sea by a perpetual decree, that it cannot pass it: and though the waves thereof toss themselves, yet can they not prevail; though they roar, yet can they not pass over it? %%% temuntya? bw'ayogera Mukama: temuukankanire kujja kwange, eyateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako? era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwangula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako. 24JER005.023 But this people hath a revolting and a rebellious heart; they are revolted and gone. %%% Naye abantu bano balina omutima omuwaganyavu era omujeemu; bajeemye bagenze. 24JER005.024 Neither say they in their heart, Let us now fear the LORD our God, that giveth rain, both the former and the latter, in his season: he reserveth unto us the appointed weeks of the harvest. %%% So teboogera mu mutima gwabwe nti Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera sabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo. 24JER005.025 Your iniquities have turned away these things, and your sins have withholden good things from you. %%% Obutali butuukirivu bwammwe bwe busindise ebyo, n'ebibi byammwe bye bibaziyiriza ebirungi. 24JER005.026 For among my people are found wicked men: they lay wait, as he that setteth snares; they set a trap, they catch men. %%% Kubanga mu bantu bange mulabika abasajja ababi: balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, bakwasa bantu. 24JER005.027 As a cage is full of birds, so are their houses full of deceit: therefore they are become great, and waxen rich. %%% Ng'ekiguli bwe kijjula ennyonyi, ennyumba zaabwe bwe zijjula bwe zityo obulimba: kyebavudde bafuuka abakulu ne bagaggawala. 24JER005.028 They are waxen fat, they shine: yea, they overpass the deeds of the wicked: they judge not the cause, the cause of the fatherless, yet they prosper; and the right of the needy do they not judge. %%% Bagezze, banyiridde: weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi: tebalowooza nsonga, ensonga y'atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe. 24JER005.029 Shall I not visit for these things? saith the LORD: shall not my soul be avenged on such a nation as this? %%% Siribonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo? 24JER005.030 A wonderful and horrible thing is committed in the land; %%% Ekigambo eky'ekitalo era eky'ekivve kituukiridde mu nsi; 24JER005.031 The prophets prophesy falsely, and the priests bear rule by their means; and my people love to have it so: and what will ye do in the end thereof? %%% bannabbi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ku lw'abo; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo: era mulikola ki ku nkomerero y'ebyo? 24JER006.001 O ye children of Benjamin, gather yourselves to flee out of the midst of Jerusalem, and blow the trumpet in Tekoa, and set up a sign of fire in Bethhaccerem: for evil appeareth out of the north, and great destruction. %%% Mudduke olw'okuwona, mmwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, musimbe akabonero ku Besukakkeremu: kubanga obubi butunula nga buyima obukiika obwa kkono n'okuzikirira okunene. 24JER006.002 I have likened the daughter of Zion to a comely and delicate woman. %%% Oyo omulungi omwekanasi, omuwala wa Sayuuni, ndimuzikiriza. 24JER006.003 The shepherds with their flocks shall come unto her; they shall pitch their tents against her round about; they shall feed every one in his place. %%% Abasumba balijja gy'ali nga balina ebisibo byabwe; balisimba eweema zaabwe okumwolekera enjuyi zonna; baliriira buli muntu mu kifo kye ye. 24JER006.004 Prepare ye war against her; arise, and let us go up at noon. Woe unto us! for the day goeth away, for the shadows of the evening are stretched out. %%% Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulinnye mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bukka, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi byenudde. 24JER006.005 Arise, and let us go by night, and let us destroy her palaces. %%% Muyimuke twambuke kiro, tuzikirize amayumba ge. 24JER006.006 For thus hath the LORD of hosts said, Hew ye down trees, and cast a mount against Jerusalem: this is the city to be visited; she is wholly oppression in the midst of her. %%% Kubanga Mukama w'eggye ayogedde bw'ati nti Muteme emiti mutuume entuumo ku Yerusaalemi: ekibuga ekyo kye kigenda okubonerezebwa; kyonna kujooga kwereere wakati mu kyo. 24JER006.007 As a fountain casteth out her waters, so she casteth out her wickedness: violence and spoil is heard in her; before me continually is grief and wounds. %%% Ng'oluzzi bwe lukulukuta amazzi gaalwo, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo: ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo. 24JER006.008 Be thou instructed, O Jerusalem, lest my soul depart from thee; lest I make thee desolate, a land not inhabited. %%% Yiga ggwe Yerusaalemi, emmeeme yange ereme okwawukana naawe; nneme okukufuula amatongo, ensi omutali muntu. 24JER006.009 Thus saith the LORD of hosts, They shall throughly glean the remnant of Israel as a vine: turn back thine hand as a grapegatherer into the baskets. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti Baliyerera ddala abalisigala ku Isiraeri ng'omuzabbibu: zza nate omukono gwo ng'omunozi w'ezabbibu mu bibbo. 24JER006.010 To whom shall I speak, and give warning, that they may hear? behold, their ear is uncircumcised, and they cannot hearken: behold, the word of the LORD is unto them a reproach; they have no delight in it. %%% Ani gwe mba njogera naye ne mba omujulirwa, balyoke bawulire? laba, okutu kwabwe si kukomole, so tebayinza kuwuliriza: laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu. 24JER006.011 Therefore I am full of the fury of the LORD; I am weary with holding in: I will pour it out upon the children abroad, and upon the assembly of young men together: for even the husband with the wife shall be taken, the aged with him that is full of days. %%% Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okuzibiikiriza: kiyiwe ku baana abato mu luguudo ne ku kkuŋŋaaniro ly'abavubuka wamu: kubanga ne bba wamu n'omukazi alikwatibwa, omukadde wamu n'oyo awezezza ennaku ennyingi. 24JER006.012 And their houses shall be turned unto others, with their fields and wives together: for I will stretch out my hand upon the inhabitants of the land, saith the LORD. %%% N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi, bw'ayogera Mukama. 24JER006.013 For from the least of them even unto the greatest of them every one is given to covetousness; and from the prophet even unto the priest every one dealeth falsely. %%% Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya. 24JER006.014 They have healed also the hurt of the daughter of my people slightly, saying, Peace, peace; when there is no peace. %%% Era bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti Mirembe, mirembe; so emirembe nga tewali. 24JER006.015 Were they ashamed when they had committed abomination? nay, they were not at all ashamed, neither could they blush: therefore they shall fall among them that fall: at the time that I visit them they shall be cast down, saith the LORD. %%% Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eby'emizizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwira mu abo abagwa: mu kiseera mwe ndibajjirira mwe balisuulirwa, bw'ayogera Mukama. 24JER006.016 Thus saith the LORD, Stand ye in the ways, and see, and ask for the old paths, where is the good way, and walk therein, and ye shall find rest for your souls. But they said, We will not walk therein. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo: naye ne boogera nti Tetuutambulire omwo. 24JER006.017 Also I set watchmen over you, saying, Hearken to the sound of the trumpet. But they said, We will not hearken. %%% Ne mbateekako abakuumi ne boogera nti Muwulirize eddoboozi ly'ekkondeere; naye ne boogera nti Tetuuwulirize. 24JER006.018 Therefore hear, ye nations, and know, O congregation, what is among them. %%% Kale muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ab'ekkuŋŋaaniro, ebiri mu bo. 24JER006.019 Hear, O earth: behold, I will bring evil upon this people, even the fruit of their thoughts, because they have not hearkened unto my words, nor to my law, but rejected it. %%% Wulira, ggwe ensi: laba, nditeeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulidde bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi. 24JER006.020 To what purpose cometh there to me incense from Sheba, and the sweet cane from a far country? your burnt offerings are not acceptable, nor your sacrifices sweet unto me. %%% Omugavu oguva e Seeba gujjira ki gye ndi, n'emmuli ez'akaloosa eziva mu nsi ey'ewala? Bye muwaayo ebyokebwa tebikkirizika gye ndi, so ne ssaddaaka zammwe tebinsanyusa. 24JER006.021 Therefore thus saith the LORD, Behold, I will lay stumblingblocks before this people, and the fathers and the sons together shall fall upon them; the neighbour and his friend shall perish. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nditeeka enkonge mu maaso g'abantu bano: ne bakitaabwe ne batabani baabwe wamu balizeesittalako; muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira. 24JER006.022 Thus saith the LORD, Behold, a people cometh from the north country, and a great nation shall be raised from the sides of the earth. %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi. 24JER006.023 They shall lay hold on bow and spear; they are cruel, and have no mercy; their voice roareth like the sea; and they ride upon horses, set in array as men for war against thee, O daughter of Zion. %%% Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja, era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala, ng'omusajja bw'atalira olutalo, okulwana naawe, ai omuwala wa Sayuuni. 24JER006.024 We have heard the fame thereof: our hands wax feeble: anguish hath taken hold of us, and pain, as of a woman in travail. %%% Tuwulidde ettutumu lyalyo; emikono gyaffe ne ginafuwala: obubalagaze butukutte n'okulumwa ng'omukazi alumwa okuzaala. 24JER006.025 Go not forth into the field, nor walk by the way; for the sword of the enemy and fear is on every side. %%% Temufulumanga mu ttale, so temutambuliranga mu kkubo; kubanga eriyo ekitala eky'omulabe n'entiisa enjuyi zonna. 24JER006.026 O daughter of my people, gird thee with sackcloth, and wallow thyself in ashes: make thee mourning, as for an only son, most bitter lamentation: for the spoiler shall suddenly come upon us. %%% Ai omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu: kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omunyazi alitujjira nga tetumanyiridde. 24JER006.027 I have set thee for a tower and a fortress among my people, that thou mayest know and try their way. %%% Nkufudde kigo era lukomera mu bantu bange; olyoke omanye okeme ekkubo lyabwe. 24JER006.028 They are all grievous revolters, walking with slanders: they are brass and iron; they are all corrupters. %%% Bonna bajeemu abatalabwa, nga batambula nga bawaayiriza; bikomo era byuma: bonna bakola eby'obukyamu. 24JER006.029 The bellows are burned, the lead is consumed of the fire; the founder melteth in vain: for the wicked are not plucked away. %%% Emivubo gifuuwa n'amaanyi; omuliro gumalawo lisasi: beeyongerera bwereere okulongoosa; kubanga ababi tebasimbulibwawo. 24JER006.030 Reprobate silver shall men call them, because the LORD hath rejected them. %%% Masengere ga ffeeza, abantu bwe balibayita bwe batyo, kubanga Mukama abasudde. 24JER007.001 The word that came to Jeremiah from the LORD, saying, %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti 24JER007.002 Stand in the gate of the LORD's house, and proclaim there this word, and say, Hear the word of the LORD, all ye of Judah, that enter in at these gates to worship the LORD. %%% Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangirire eyo ekigambo kino, oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama. 24JER007.003 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel, Amend your ways and your doings, and I will cause you to dwell in this place. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibatuuza mu kifo kino. 24JER007.004 Trust ye not in lying words, saying, The temple of the LORD, The temple of the LORD, The temple of the LORD, are these. %%% Temwesiganga bigambo bya bulimba nti Bino ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama. 24JER007.005 For if ye throughly amend your ways and your doings; if ye throughly execute judgment between a man and his neighbour; %%% Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaatuukiririzanga ddala emisango eri omuntu ne munne; 24JER007.006 If ye oppress not the stranger, the fatherless, and the widow, and shed not innocent blood in this place, neither walk after other gods to your hurt: %%% bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so temuuyiwenga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, so temuutambulenga okugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini: 24JER007.007 Then will I cause you to dwell in this place, in the land that I gave to your fathers, for ever and ever. %%% kale ndibatuuza mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw'edda bwonna okutuusa emirembe gyonna. 24JER007.008 Behold, ye trust in lying words, that cannot profit. %%% Laba, mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitayinza kugasa. 24JER007.009 Will ye steal, murder, and commit adultery, and swear falsely, and burn incense unto Baal, and walk after other gods whom ye know not; %%% Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby'obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga, 24JER007.010 And come and stand before me in this house, which is called by my name, and say, We are delivered to do all these abominations? %%% ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno erituumibwa erinnya lyange, ne mwogera nti Tuwonyezebbwa; mulyoke mukole emizizo egyo gyonna? 24JER007.011 Is this house, which is called by my name, become a den of robbers in your eyes? Behold, even I have seen it, saith the LORD. %%% Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama. 24JER007.012 But go ye now unto my place which was in Shiloh, where I set my name at the first, and see what I did to it for the wickedness of my people Israel. %%% Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw'obubi bw'abantu bange Isiraeri. 24JER007.013 And now, because ye have done all these works, saith the LORD, and I spake unto you, rising up early and speaking, but ye heard not; and I called you, but ye answered not; %%% Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama; ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba: 24JER007.014 Therefore will I do unto this house, which is called by my name, wherein ye trust, and unto the place which I gave to you and to your fathers, as I have done to Shiloh. %%% kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange; gye mwesiga, n'ekifo kye nnawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro. 24JER007.015 And I will cast you out of my sight, as I have cast out all your brethren, even the whole seed of Ephraim. %%% Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu. 24JER007.016 Therefore pray not thou for this people, neither lift up cry nor prayer for them, neither make intercession to me: for I will not hear thee. %%% Kale tosabiranga bantu bano so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba, so tonneegayiriranga okuwolereza, kubanga siikuwulire. 24JER007.017 Seest thou not what they do in the cities of Judah and in the streets of Jerusalem? %%% Tolabye bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi? 24JER007.018 The children gather wood, and the fathers kindle the fire, and the women knead their dough, to make cakes to the queen of heaven, and to pour out drink offerings unto other gods, that they may provoke me to anger. %%% Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansunguwaze. 24JER007.019 Do they provoke me to anger? saith the LORD: do they not provoke themselves to the confusion of their own faces? %%% Basunguwaza nze? bw'ayogera Mukama tebeesunguwaza bo bennyini, okuswaza amaaso gaabwe bo? 24JER007.020 Therefore thus saith the Lord GOD; Behold, mine anger and my fury shall be poured out upon this place, upon man, and upon beast, and upon the trees of the field, and upon the fruit of the ground; and it shall burn, and shall not be quenched. %%% Mu kama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange birifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so te bulizikizibwa. 24JER007.021 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Put your burnt offerings unto your sacrifices, and eat flesh. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama. 24JER007.022 For I spake not unto your fathers, nor commanded them in the day that I brought them out of the land of Egypt, concerning burnt offerings or sacrifices: %%% Kubanga saayogera ne baajjammwe so saabalagira ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri eby'ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka: 24JER007.023 But this thing commanded I them, saying, Obey my voice, and I will be your God, and ye shall be my people: and walk ye in all the ways that I have commanded you, that it may be well unto you. %%% naye ekigambo kino kye nnabaagira nti Muwulirenga eddoboozi lyange, nange naabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange: era mutambulirenga nu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi. 24JER007.024 But they hearkened not, nor inclined their ear, but walked in the counsels and in the imagination of their evil heart, and went backward, and not forward. %%% Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda ennyuma so tebeeyongera mu maaso. 24JER007.025 Since the day that your fathers came forth out of the land of Egypt unto this day I have even sent unto you all my servants the prophets, daily rising up early and sending them: %%% Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma: 24JER007.026 Yet they hearkened not unto me, nor inclined their ear, but hardened their neck: they did worse than their fathers. %%% era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe: baakola obubi okukira bajjajjaabwe. 24JER007.027 Therefore thou shalt speak all these words unto them; but they will not hearken to thee: thou shalt also call unto them; but they will not answer thee. %%% Era obagambanga ebigambo bino byonna; naye tebaakuwulirenga; era obakoowoolanga, naye tebaakuyitabenga. 24JER007.028 But thou shalt say unto them, This is a nation that obeyeth not the voice of the LORD their God, nor receiveth correction: truth is perished, and is cut off from their mouth. %%% Era obagambanga nti Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa: amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe. 24JER007.029 Cut off thine hair, O Jerusalem, and cast it away, and take up a lamentation on high places; for the LORD hath rejected and forsaken the generation of his wrath. %%% Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku nsozi ez'obweru; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe egy'obusungu bwe, abaleseeyo. 24JER007.030 For the children of Judah have done evil in my sight, saith the LORD: they have set their abominations in the house which is called by my name, to pollute it. %%% Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama: batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona. 24JER007.031 And they have built the high places of Tophet, which is in the valley of the son of Hinnom, to burn their sons and their daughters in the fire; which I commanded them not, neither came it into my heart. %%% Era bazimbye ebifo ebigulumivu eby'e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekyayingira mu mutima gwange. 24JER007.032 Therefore, behold, the days come, saith the LORD, that it shall no more be called Tophet, nor the valley of the son of Hinnom, but the valley of slaughter: for they shall bury in Tophet, till there be no place. %%% Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu. 24JER007.033 And the carcases of this people shall be meat for the fowls of the heaven, and for the beasts of the earth; and none shall fray them away. %%% N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsi; so tewaliba alizisaggula. 24JER007.034 Then will I cause to cease from the cities of Judah, and from the streets of Jerusalem, the voice of mirth, and the voice of gladness, the voice of the bridegroom, and the voice of the bride: for the land shall be desolate. %%% Awo ne ndyoka nkomya mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'essanyu, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole: kubanga ensi erifuuka nsiko. 24JER008.001 At that time, saith the LORD, they shall bring out the bones of the kings of Judah, and the bones of his princes, and the bones of the priests, and the bones of the prophets, and the bones of the inhabitants of Jerusalem, out of their graves: %%% Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, baliggya amagumba ga bassekabaka ba Yuda n'amagumba g'abakungu be n'amagumba ga bakabona n'amagumba ga bannabbi n'amagumba g'abo abali mu Yerusaalemi mu malaalo gaabwe. 24JER008.002 And they shall spread them before the sun, and the moon, and all the host of heaven, whom they have loved, and whom they have served, and after whom they have walked, and whom they have sought, and whom they have worshipped: they shall not be gathered, nor be buried; they shall be for dung upon the face of the earth. %%% Kale baligaaliira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'eggye lyonna ery'omu ggulu, bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, era bye baagobereranga mu kutambula kwabwe, era bye baanoonyanga, era bye baasinzanga: tegalikuŋŋaanyizibwa so tegaliziikibwa; galiba busa ku maaso g'ettaka. 24JER008.003 And death shall be chosen rather than life by all the residue of them that remain of this evil family, which remain in all the places whither I have driven them, saith the LORD of hosts. %%% Era okufa kulyagalibwa okusinga obulamu eri bonna abafisseewo abasigalawo ku kika kino ekibi, abasigalawo mu bifo byonna gye nnabagobera, bw'ayogera Mukama w'eggye. 24JER008.004 Moreover thou shalt say unto them, Thus saith the LORD; Shall they fall, and not arise? shall he turn away, and not return? %%% Era nate obagambanga nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Abantu baligwa ne batayimuka nate? omuntu alikyama n'atadda? 24JER008.005 Why then is this people of Jerusalem slidden back by a perpetual backsliding? they hold fast deceit, they refuse to return. %%% Kale abantu bano ab'omu Yerusaalemi kiki ekibazzizza ennyuma nga baseeseetuka obutayosa? banywezezza obulimba, bagaanyi okudda. 24JER008.006 I hearkened and heard, but they spake not aright: no man repented him of his wickedness, saying, What have I done? every one turned to his course, as the horse rusheth into the battle. %%% Nawuliriza ne mpulira, naye tebaayogera bya nsonga: tewali muntu eyeenenya obubi bwe ng'ayogera nti Nkoze ki? buli muntu akyukira mu lugendo lwe ng'embalaasi efubutukira mu lutalo. 24JER008.007 Yea, the stork in the heaven knoweth her appointed times; and the turtle and the crane and the swallow observe the time of their coming; but my people know not the judgment of the LORD. %%% Weewaawo, kasida ow'omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n'akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama. 24JER008.008 How do ye say, We are wise, and the law of the LORD is with us? Lo, certainly in vain made he it; the pen of the scribes is in vain. %%% Mwogera mutya nti Tulina amagezi, n'amateeka ga Mukama gali naffe? Naye, laba, ekkalaamu ey'obulimba ey'abawandiisi ewandiise ebitali bya mazima. 24JER008.009 The wise men are ashamed, they are dismayed and taken: lo, they have rejected the word of the LORD; and what wisdom is in them? %%% Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa: laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo? 24JER008.010 Therefore will I give their wives unto others, and their fields to them that shall inherit them: for every one from the least even unto the greatest is given to covetousness, from the prophet even unto the priest every one dealeth falsely. %%% Kyendiva mbawa abalala bakazi baabwe n'ennimiro zaabwe eri abo abalizirya: kubanga buli muntu, omuto era n'omukulu, wa mululu, nnabbi era ne kabona, buli muntu alyazaamaanya. 24JER008.011 For they have healed the hurt of the daughter of my people slightly, saying, Peace, peace; when there is no peace. %%% Era bawonyezza ekiwundu eky'omuwala w'abantu bange kungulu kwokka nga boogera nti Mirembe, mirembe; so nga emirembe tewali. 24JER008.012 Were they ashamed when they had committed abomination? nay, they were not at all ashamed, neither could they blush: therefore shall they fall among them that fall: in the time of their visitation they shall be cast down, saith the LORD. %%% Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eky'omuzizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwa mu abo abagwa: mu biro mwe balijjirwa mwe balimeggerwa, bw'ayogera Mukama. 24JER008.013 I will surely consume them, saith the LORD: there shall be no grapes on the vine, nor figs on the fig tree, and the leaf shall fade; and the things that I have given them shall pass away from them. %%% Ndibamalirawo ddala, bw'ayogera Mukama: ku muzabbibu tekuliba zabbibu, newakubadde ettiini ku mutiini, n'amalagala galiwotoka; n'ebintu bye nnabawa biribavaako. 24JER008.014 Why do we sit still? assemble yourselves, and let us enter into the defenced cities, and let us be silent there: for the LORD our God hath put us to silence, and given us water of gall to drink, because we have sinned against the LORD. %%% Kiki ekitutuuza obutuuza? mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera, tusirikire eyo: kubanga Mukama Katonda waffe atusirisizza, era atunywesezza amazzi ag'omususa, kubanga twayonoona Mukama. Twasuubira emirembe, naye ne wataba birungi ebyajja; twasuubira ebiro eby'okuwonyezebwamu, era, laba, okukeŋŋentererwa! 24JER008.015 We looked for peace, but no good came; and for a time of health, and behold trouble! %%% Twasuubira emirembe, naye ne wataba birungi ebyajja; twasuubira ebiro eby'okuwonyezebwamu, era, laba, okukeŋŋentererwa! 24JER008.016 The snorting of his horses was heard from Dan: the whole land trembled at the sound of the neighing of his strong ones; for they are come, and have devoured the land, and all that is in it; the city, and those that dwell therein. %%% Okufugula kw'embalaasi ze kuwuliddwa ng'oyima e Ddaani: olw'eddoboozi ery'okukaaba kw'ensolo ze ez'amaanyi ensi yonna ekankana; kubanga zizze, era ziridde ensi ne byonna ebigirimu; ekibuga n'abo abakituulamu. 24JER008.017 For, behold, I will send serpents, cockatrices, among you, which will not be charmed, and they shall bite you, saith the LORD. %%% Kubanga, laba, ndisindika emisota, amasalambwa, agatalogeka; era galibaluma, bw'ayogera Mukama. 24JER008.018 When I would comfort myself against sorrow, my heart is faint in me. %%% Woowe, singa nnyinza okwesanyusa mu buyinike! omutima gwange guweddemu amaanyi munda yange. 24JER008.019 Behold the voice of the cry of the daughter of my people because of them that dwell in a far country: Is not the LORD in Zion? is not her king in her? Why have they provoked me to anger with their graven images, and with strange vanities? %%% Laba, eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'omuwala w'abantu bange eriva mu nsi eri ewala ennyo nti Mukama tali mu Sayuuni? Kabaka waakyo tali mu kyo? Lwaki bo okunsunguwazanga n'ebifaananyi byabwe ebyole n'ebirerya ebiggya? 24JER008.020 The harvest is past, the summer is ended, and we are not saved. %%% Ebikungulwa biwedde, ekyeya kiyise, naffe tetulokose. 24JER008.021 For the hurt of the daughter of my people am I hurt; I am black; astonishment hath taken hold on me. %%% Kubanga omuwala w'abantu bange afumitiddwa ekiwundu, nange nfumitiddwa ekiwundu: nzirugadde; okusamaalirira kunkutte. 24JER008.022 Is there no balm in Gilead; is there no physician there? why then is not the health of the daughter of my people recovered? %%% Teri ddagala mu Gireyaadi? teri musawo eyo? kale kiki ekirobedde omuwala w'abantu bange okuwona? 24JER009.001 Oh that my head were waters, and mine eyes a fountain of tears, that I might weep day and night for the slain of the daughter of my people! %%% Omutwe gwange singa gubadde mazzi, n'amaaso gange singa luzzi lwa maziga, nkaabirenga emisana n'ekiro abo abattiddwa ab'omuwala w'abantu bange! 24JER009.002 Oh that I had in the wilderness a lodging place of wayfaring men; that I might leave my people, and go from them! for they be all adulterers, an assembly of treacherous men. %%% Singa mbadde n'ekisulo eky'abatambuze mu ddungu; ndeke abantu bange mbaveeko! kubanga bonna benzi, ekibiina eky'abasajja ab'enkwe. 24JER009.003 And they bend their tongues like their bow for lies: but they are not valiant for the truth upon the earth; for they proceed from evil to evil, and they know not me, saith the LORD. %%% Era banaanuula olulimi lwabwe ng'omutego gwabwe olw'okulimba; era bafuuse ba maanyi mu nsi, naye si lwa mazima: kubanga baava mu bubi okweyongera mu bubi, so tebammanyi nze, bw'ayogera Mukama. 24JER009.004 Take ye heed every one of his neighbour, and trust ye not in any brother: for every brother will utterly supplant, and every neighbour will walk with slanders. %%% Mwekuumenga buli muntu munne, so temwesiganga wa luganda yenna: kubanga buli ow'oluganda aliriira ddala muganda we, na buli munne alitambulatambula ng'awaayiriza. 24JER009.005 And they will deceive every one his neighbour, and will not speak the truth: they have taught their tongue to speak lies, and weary themselves to commit iniquity. %%% Era balirimba buli muntu munne, so tebalyogera bya mazima: bayigirizza olulimi lwabwe okwogera eby'obulimba; beekooya nga bakola ebitali bya butuukirivu. 24JER009.006 Thine habitation is in the midst of deceit; through deceit they refuse to know me, saith the LORD. %%% Ekifo ky'obeeramu kiri wakati mu bulimba; olw'obulimba kyebava bagaana okummanya, bw'ayogera Mukama. 24JER009.007 Therefore thus saith the LORD of hosts, Behold, I will melt them, and try them; for how shall I do for the daughter of my people? %%% Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibasaanuusa ne mbakema; kubanga nandikoze ntya olw'omuwala w'abantu bange? 24JER009.008 Their tongue is as an arrow shot out; it speaketh deceit: one speaketh peaceably to his neighbour with his mouth, but in heart he layeth his wait. %%% Olulimi lwabwe kasaale akatta; lwogera eby'obulimba: wabaawo ayogera ne munne eby'emirembe n'akamwa ke, naye amuteega mu mutima gwe. 24JER009.009 Shall I not visit them for these things? saith the LORD: shall not my soul be avenged on such a nation as this? %%% Siribabonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo? 24JER009.010 For the mountains will I take up a weeping and wailing, and for the habitations of the wilderness a lamentation, because they are burned up, so that none can pass through them; neither can men hear the voice of the cattle; both the fowl of the heavens and the beast are fled; they are gone. %%% Nditanula okukaaba amaziga n'okukungubaga olw'ensozi, n'okwesaasaabaga olw'amalundiro ag'omu ddungu, kubanga gookeddwa, ne wataba ayitamu; so n'abantu tebawulira kuŋooŋa kwa nte; ennyonyi ez'omu bbanga era n'ensolo zidduse, zigenze. 24JER009.011 And I will make Jerusalem heaps, and a den of dragons; and I will make the cities of Judah desolate, without an inhabitant. %%% Era ndifuula Yerusaalemi okuba ebifunvu, ekisulo eky'ebibe; era ndifuula ebibuga bya Yuda okuba amatongo awatali abituulamu. 24JER009.012 Who is the wise man, that may understand this? and who is he to whom the mouth of the LORD hath spoken, that he may declare it, for what the land perisheth and is burned up like a wilderness, that none passeth through? %%% Omugezigezi ye ani ayinza okutegeera kino? era ani oyo akamwa ka Mukama gwe koogedde naye, akinnyonnyole? ensi ebulidde ki n'eggya ng'eddungu, ne wataba ayitamu? 24JER009.013 And the LORD saith, Because they have forsaken my law which I set before them, and have not obeyed my voice, neither walked therein; %%% Era Mukama ayogera nti Kubanga balese amateeka gange ge nnateeka mu maaso gaabwe so tebagondedde ddoboozi lyange so tebatambulidde omwo; 24JER009.014 But have walked after the imagination of their own heart, and after Baalim, which their fathers taught them: %%% naye ne batambula ng'obukakanyavu bwe buli obw'omutima gwabwe bo n'okugoberera Babaali bajjajjaabwe be baabayigiriza: 24JER009.015 Therefore thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will feed them, even this people, with wormwood, and give them water of gall to drink. %%% Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibaliisa abantu bano abusinso ne mbanywesa amazzi ag'omususa: 24JER009.016 I will scatter them also among the heathen, whom neither they nor their fathers have known: and I will send a sword after them, till I have consumed them. %%% Era ndibasaasaanyiza mu mawanga, ge batamanyanga bo newakubadde bajjajjaabwe: era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndimala okubazikiriza. 24JER009.017 Thus saith the LORD of hosts, Consider ye, and call for the mourning women, that they may come; and send for cunning women, that they may come: %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mulowooze, muyite abakazi abakungubazi, bajje; era mutumye abakazi abakabakaba, bajje; 24JER009.018 And let them make haste, and take up a wailing for us, that our eyes may run down with tears, and our eyelids gush out with waters. %%% era banguwe batanule okutukubira ebiwoobe, amaaso gaffe gakulukute amaziga, n'ebikowe byaffe bitiiriike amazzi. 24JER009.019 For a voice of wailing is heard out of Zion, How are we spoiled! we are greatly confounded, because we have forsaken the land, because our dwellings have cast us out. %%% Kubanga eddoboozi ery'ebiwoobe liwulirwa nga liva mu Sayuuni nti Nga tunyagiddwa! tuswadde nnyo, kubanga twaleka ensi, kubanga basudde ennyumba zaffe. 24JER009.020 Yet hear the word of the LORD, O ye women, and let your ear receive the word of his mouth, and teach your daughters wailing, and every one her neighbour lamentation. %%% Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakazi, n'okutu kwammwe kukkirize ekigambo eky'omu kamwa ke, muyigirize abawala bammwe okukuba ebiwoobe, na buli muntu ayigirize munne okukungubaga. 24JER009.021 For death is come up into our windows, and is entered into our palaces, to cut off the children from without, and the young men from the streets. %%% Kubanga okufa kulinnye mu bituli byaffe, kuyingidde mu mayu gaffe; okumalawo abaana ebweru, n'abalenzi mu nguudo. 24JER009.022 Speak, Thus saith the LORD, Even the carcases of men shall fall as dung upon the open field, and as the handful after the harvestman, and none shall gather them. %%% Mwogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Emirambo gy'abasajja girigwa ng'obusa ku ttale ebweru, era ng'ekinywa ekiri ennyuma w'omukunguzi, so tewaliba aligironda. 24JER009.023 Thus saith the LORD, Let not the wise man glory in his wisdom, neither let the mighty man glory in his might, let not the rich man glory in his riches: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Omugezigezi teyeenyumirizanga olw'amagezi ge, so n'ow'amaanyi teyeenyumirizanga olw'amaanyi ge so n'omugagga teyeenyumirizanga olw'obugagga bwe: 24JER009.024 But let him that glorieth glory in this, that he understandeth and knoweth me, that I am the LORD which exercise lovingkindness, judgment, and righteousness, in the earth: for in these things I delight, saith the LORD. %%% naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga olwa kino, ng'ategeera era ng'amanyi nze nga ndi Mukama akola eby'ekisa n'eby'ensonga n'eby'obutuukirivu mu nsi: kubanga ebyo bye nsanyukira, bw'ayogera Mukama. 24JER009.025 Behold, the days come, saith the LORD, that I will punish all them which are circumcised with the uncircumcised; %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndibonereza abo bonna abakomolwa mu butakomolwa bwabwe. 24JER009.026 Egypt, and Judah, and Edom, and the children of Ammon, and Moab, and all that are in the utmost corners, that dwell in the wilderness: for all these nations are uncircumcised, and all the house of Israel are uncircumcised in the heart. %%% Misiri ne Yuda ne Edomu n'abaana ba Amoni ne Mowaabu ne bonna abamwa oluge, ababeera mu ddungu: kubanga amawanga gonna si makomole, n'ennyumba yonna eya Isiraeri si bakomole mu mutima gwabwe. 24JER010.001 Hear ye the word which the LORD speaketh unto you, O house of Israel: %%% Muwulire ekigambo Mukama ky'abagamba, mmwe ennyumba ya Isiraeri: 24JER010.002 Thus saith the LORD, Learn not the way of the heathen, and be not dismayed at the signs of heaven; for the heathen are dismayed at them. %%% bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuyiganga kkubo lya mawanga, so temweraliikiriranga bubonero bwa mu ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira. 24JER010.003 For the customs of the people are vain: for one cutteth a tree out of the forest, the work of the hands of the workman, with the axe. %%% Kubanga empisa ez'amawanga teziriiko kye zigasa: kubanga wabaawo omu atema omuti mu kibira, omulimu ogw'emikono gy'omukozi n'embazzi. 24JER010.004 They deck it with silver and with gold; they fasten it with nails and with hammers, that it move not. %%% Baguyonja ne ffeeza ne zaabu; bagukomerera n'enninga n'ennyondo gulemenga okusagaasagana. 24JER010.005 They are upright as the palm tree, but speak not: they must needs be borne, because they cannot go. Be not afraid of them; for they cannot do evil, neither also is it in them to do good. %%% Bifaanana olukoma oluliko enjola so tebyogera: tebirema kusitulibwa kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo. 24JER010.006 Forasmuch as there is none like unto thee, O LORD; thou art great, and thy name is great in might. %%% Tewali afaanana ggwe, ai Mukama; ggwe mukulu, n'erinnya lyo kkulu mu buyinza. 24JER010.007 Who would not fear thee, O King of nations? for to thee doth it appertain: forasmuch as among all the wise men of the nations, and in all their kingdoms, there is none like unto thee. %%% Ani atandikutidde, ai Kabaka w'amawanga? kubanga kukugwanira ggwe: kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe. 24JER010.008 But they are altogether brutish and foolish: the stock is a doctrine of vanities. %%% Naye bo bonna wamu bali ng'ensolo, basirusiru: okuyigiriza kw'ebifaananyi kisiki busiki. 24JER010.009 Silver spread into plates is brought from Tarshish, and gold from Uphaz, the work of the workman, and of the hands of the founder: blue and purple is their clothing: they are all the work of cunning men. %%% Waliwo ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu; kaniki n’olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gwa basajja abakabakaba. 24JER010.010 But the LORD is the true God, he is the living God, and an everlasting king: at his wrath the earth shall tremble, and the nations shall not be able to abide his indignation. %%% Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo: ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe. 24JER010.011 Thus shall ye say unto them, The gods that have not made the heavens and the earth, even they shall perish from the earth, and from under these heavens. %%% Bwe muti bwe muba mubaganba nti Bakatonda abatakola ggulu na nsi, abo balibula mu nsi n'okuva wansi w'eggulu. 24JER010.012 He hath made the earth by his power, he hath established the world by his wisdom, and hath stretched out the heavens by his discretion. %%% Yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe: 24JER010.013 When he uttereth his voice, there is a multitude of waters in the heavens, and he causeth the vapours to ascend from the ends of the earth; he maketh lightnings with rain, and bringeth forth the wind out of his treasures. %%% bw'aleeta eddooozi lye, ne waba oluyoogaano alw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge. 24JER010.014 Every man is brutish in his knowledge: every founder is confounded by the graven image: for his molten image is falsehood, and there is no breath in them. %%% Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo. 24JER010.015 They are vanity, and the work of errors: in the time of their visitation they shall perish. %%% Tebiriiko kye bigasa, mulimu gwa bulimba: biribulira mu biro mwe birijjirirwa. 24JER010.016 The portion of Jacob is not like them: for he is the former of all things; and Israel is the rod of his inheritance: The LORD of hosts is his name. %%% Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye. 24JER010.017 Gather up thy wares out of the land, O inhabitant of the fortress. %%% Kuŋŋaanya eby'obuguzi bwo obiggye mu nsi, ggwe atuula mu kibuga ekizingizibwa. 24JER010.018 For thus saith the LORD, Behold, I will sling out the inhabitants of the land at this once, and will distress them, that they may find it so. %%% Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi okubaggyamu mu biro bino, era ndibasaasaanya, balumibwe. 24JER010.019 Woe is me for my hurt! my wound is grievous: but I said, Truly this is a grief, and I must bear it. %%% Zinsanze olw'ekiwundu kyange! ekiwundu kyange kinnuma nnyo: naye ne njogera nti Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza. 24JER010.020 My tabernacle is spoiled, and all my cords are broken: my children are gone forth of me, and they are not: there is none to stretch forth my tent any more, and to set up my curtains. %%% Eweema yange enyagiddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse: abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo: tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okusimba amagigi gange. 24JER010.021 For the pastors are become brutish, and have not sought the LORD: therefore they shall not prosper, and all their flocks shall be scattered. %%% Kubanga abasumba bafuuse ng'ensolo, so tebabuuzizza Mukama: kyebavudde balema okulaba omukisa, n'embuzi zaabwe zonna zisaasaanye. 24JER010.022 Behold, the noise of the bruit is come, and a great commotion out of the north country, to make the cities of Judah desolate, and a den of dragons. %%% Eddoboozi ery'ekigambo kye babuulira, laba, lijja, n'okusasamala okunene okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ekisulo eky'ebibe. 24JER010.023 O LORD, I know that the way of man is not in himself: it is not in man that walketh to direct his steps. %%% Ai Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye. 24JER010.024 O LORD, correct me, but with judgment; not in thine anger, lest thou bring me to nothing. %%% Ai Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza. 24JER010.025 Pour out thy fury upon the heathen that know thee not, and upon the families that call not on thy name: for they have eaten up Jacob, and devoured him, and consumed him, and have made his habitation desolate. %%% Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo: kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde, bamumazeewo, bazisizza ekifo kye mw'abeera. 24JER011.001 The word that came to Jeremiah from the LORD, saying, %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti 24JER011.002 Hear ye the words of this covenant, and speak unto the men of Judah, and to the inhabitants of Jerusalem; %%% Muwulire ebigambo eby'endagaano eno, era mugambe abasajja ba Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi; 24JER011.003 And say thou unto them, Thus saith the LORD God of Israel; Cursed be the man that obeyeth not the words of this covenant, %%% obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Omusajja akolimirwe atawulira bigambo bya ndagaano eno, 24JER011.004 Which I commanded your fathers in the day that I brought them forth out of the land of Egypt, from the iron furnace, saying, Obey my voice, and do them, according to all which I command you: so shall ye be my people, and I will be your God: %%% gye nnalagirira bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, nga njogera nti Mugonderenga eddoboozi lyange mubikolenga nga byonna bwe biri bye mbalagira: bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange naabanga Katonda wammwe: 24JER011.005 That I may perform the oath which I have sworn unto your fathers, to give them a land flowing with milk and honey, as it is this day. Then answered I, and said, So be it, O LORD. %%% ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki nga leero. Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti Amiina, ai Mukama. 24JER011.006 Then the LORD said unto me, Proclaim all these words in the cities of Judah, and in the streets of Jerusalem, saying, Hear ye the words of this covenant, and do them. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera nti Muwulire ebigambo eby'endagaano eno mubikole. 24JER011.007 For I earnestly protested unto your fathers in the day that I brought them up out of the land of Egypt, even unto this day, rising early and protesting, saying, Obey my voice. %%% Kubanga nategeereza ddala bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri ne leero, nga ngolokoka mu makya era nga ntegeeza, nga njogera nti Mugondere eddoboozi lyange. 24JER011.008 Yet they obeyed not, nor inclined their ear, but walked every one in the imagination of their evil heart: therefore I will bring upon them all the words of this covenant, which I commanded them to do: but they did them not. %%% Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi: kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola. 24JER011.009 And the LORD said unto me, A conspiracy is found among the men of Judah, and among the inhabitants of Jerusalem. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Okwekobaana kulabise mu basajja ba Yuda ne mu abo abali mu Yerusaalemi. 24JER011.010 They are turned back to the iniquities of their forefathers, which refused to hear my words; and they went after other gods to serve them: the house of Israel and the house of Judah have broken my covenant which I made with their fathers. %%% Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga: ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe. 24JER011.011 Therefore thus saith the LORD, Behold, I will bring evil upon them, which they shall not be able to escape; and though they shall cry unto me, I will not hearken unto them. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibaleetako obubi bwe bataliyinza kuwona; era balinkaabirira, naye siribawuliriza. 24JER011.012 Then shall the cities of Judah and inhabitants of Jerusalem go, and cry unto the gods unto whom they offer incense: but they shall not save them at all in the time of their trouble. %%% Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane: naye tebalibalokolera n'akamu mu biro mwe balabira ennaku. 24JER011.013 For according to the number of thy cities were thy gods, O Judah; and according to the number of the streets of Jerusalem have ye set up altars to that shameful thing, even altars to burn incense unto Baal. %%% Kubanga ebibuga byammwe bwe byenkana obungi, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ai Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe musimbidde bwe mutyo ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali. 24JER011.014 Therefore pray not thou for this people, neither lift up a cry or prayer for them: for I will not hear them in the time that they cry unto me for their trouble. %%% Kale ggwe tosabiranga bantu bano, so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba: kubanga siribawulirira mu biro mwe balinkaabirira olw'ennaku ze balabye. 24JER011.015 What hath my beloved to do in mine house, seeing she hath wrought lewdness with many, and the holy flesh is passed from thee? when thou doest evil, then thou rejoicest. %%% Muganzi wange afaayo ki mu nnyumba yange, kubanga akoze eby'obukaba n'abangi, n'omubiri omutukuvu gukuvuddeko? bw'okola obubi lw'osanyuka. 24JER011.016 The LORD called thy name, A green olive tree, fair, and of goodly fruit: with the noise of a great tumult he hath kindled fire upon it, and the branches of it are broken. %%% Mukama yakutuuma erinnya nti Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi: n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, n'amatabi gaagwo gamenyese. 24JER011.017 For the LORD of hosts, that planted thee, hath pronounced evil against thee, for the evil of the house of Israel and of the house of Judah, which they have done against themselves to provoke me to anger in offering incense unto Baal. %%% Kubanga Mukama w'eggye eyakusimba akwogeddeko obubi, olw'obubi obw'ennyumba ya Isiraeri n'obw'ennyumba ya Yuda bwe beekolera nga bansunguwaza olw'okwotereza Baali obubaane. 24JER011.018 And the LORD hath given me knowledge of it, and I know it: then thou shewedst me their doings. %%% Awo Mukama n'akimmanyisa ne nkimanya: kale n'olyoka ondaga ebikolwa byabwe. 24JER011.019 But I was like a lamb or an ox that is brought to the slaughter; and I knew not that they had devised devices against me, saying, Let us destroy the tree with the fruit thereof, and let us cut him off from the land of the living, that his name may be no more remembered. %%% Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so saamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate. 24JER011.020 But, O LORD of hosts, that judgest righteously, that triest the reins and the heart, let me see thy vengeance on them: for unto thee have I revealed my cause. %%% Naye, ai Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo: kubanga ggwe ntegeezezza ensonga yange. 24JER011.021 Therefore thus saith the LORD of the men of Anathoth, that seek thy life, saying, Prophesy not in the name of the LORD, that thou die not by our hand: %%% Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti Tolaguliranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta: 24JER011.022 Therefore thus saith the LORD of hosts, Behold, I will punish them: the young men shall die by the sword; their sons and their daughters shall die by famine: %%% Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibabonereza: abavubuka balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala; 24JER011.023 And there shall be no remnant of them: for I will bring evil upon the men of Anathoth, even the year of their visitation. %%% so tebaliba na balifikkawo: kubanga ndireeta obubi ku basajja aba Anasosi, gwe mwaka mwe balijjirirwa. 24JER012.001 Righteous art thou, O LORD, when I plead with thee: yet let me talk with thee of thy judgments: Wherefore doth the way of the wicked prosper? wherefore are all they happy that deal very treacherously? %%% Oli mutuukirivu, ai Mukama, bwe mpoza naawe: naye era nandibadde ne kye nkunnyonnyolayoko: ekkubo ery'ababi lirabira ki omukisa? batereerera ki abo bonna abalimbalimba ennyo? 24JER012.002 Thou hast planted them, yea, they have taken root: they grow, yea, they bring forth fruit: thou art near in their mouth, and far from their reins. %%% Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi; bamera, weewaawo, babala ebibala: oli kumpi mu kamwa kaabwe, oli wala n'emmeeme yaabwe. 24JER012.003 But thou, O LORD, knowest me: thou hast seen me, and tried mine heart toward thee: pull them out like sheep for the slaughter, and prepare them for the day of slaughter. %%% Naye ggwe, ai Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli: basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirako. 24JER012.004 How long shall the land mourn, and the herbs of every field wither, for the wickedness of them that dwell therein? the beasts are consumed, and the birds; because they said, He shall not see our last end. %%% Ensi erituusa wa okuwuubaala, n'emiddo egy'omu nsi yonna ne giwotoka? olw'obubi bw'abo abagirimu ensolo kyeziva zimalibwawo, n'ennyonyi; kubanga bayogera nti Taliraba nkomerero yaffe ya luvannyuma. 24JER012.005 If thou hast run with the footmen, and they have wearied thee, then how canst thou contend with horses? and if in the land of peace, wherein thou trustedst, they wearied thee, then how wilt thou do in the swelling of Jordan? %%% Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? era newakubadde nga weegolodde mu nsi ey'emirembe, naye olikola otya mu malala ga Yoludaani? 24JER012.006 For even thy brethren, and the house of thy father, even they have dealt treacherously with thee; yea, they have called a multitude after thee: believe them not, though they speak fair words unto thee. %%% Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyelimbye; era nabo balangirizza ennyuma wo: tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi. 24JER012.007 I have forsaken mine house, I have left mine heritage; I have given the dearly beloved of my soul into the hand of her enemies. %%% Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange; mpaddeyo oyo emmeeme yange gw'eyagala ennyo nnyini mu mukono gw'abalabe be. 24JER012.008 Mine heritage is unto me as a lion in the forest; it crieth out against me: therefore have I hated it. %%% Obusika bwange bufuuse gye ndi ng'empologoma mu kibira: ayimusizza eddoboozi lye ku nze; kyenvudde mmukyawa. 24JER012.009 Mine heritage is unto me as a speckled bird, the birds round about are against her; come ye, assemble all the beasts of the field, come to devour. %%% Obusika bwange buli gye ndi ng'ennyonyi eyigga ey'amabala? ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu nsiko, muzireete zirye. 24JER012.010 Many pastors have destroyed my vineyard, they have trodden my portion under foot, they have made my pleasant portion a desolate wilderness. %%% Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw'emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n'ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu. 24JER012.011 They have made it desolate, and being desolate it mourneth unto me; the whole land is made desolate, because no man layeth it to heart. %%% Bagufudde matongo; guwuubaala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissaako mwoyo. 24JER012.012 The spoilers are come upon all high places through the wilderness: for the sword of the LORD shall devour from the one end of the land even to the other end of the land: no flesh shall have peace. %%% Abanyazi batuuse ku nsozi zonna ez'obweru mu ddungu: kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi: tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe. 24JER012.013 They have sown wheat, but shall reap thorns: they have put themselves to pain, but shall not profit: and they shall be ashamed of your revenues because of the fierce anger of the LORD. %%% Basiga eŋŋaano, bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasizza: era mulikwatibwa ensonyi olw'ebibala byammwe olw'ekiruyi kya Mukama. 24JER012.014 Thus saith the LORD against all mine evil neighbours, that touch the inheritance which I have caused my people Israel to inherit; Behold, I will pluck them out of their land, and pluck out the house of Judah from among them. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama eri baliraanwa bange bonna ababi abakoma ku busika bwe nnasisa abantu bange Isiraeri nti Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula ennyumba ya Yuda wakati mu bo. 24JER012.015 And it shall come to pass, after that I have plucked them out I will return, and have compassion on them, and will bring them again, every man to his heritage, and every man to his land. %%% Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe. 24JER012.016 And it shall come to pass, if they will diligently learn the ways of my people, to swear by my name, The LORD liveth; as they taught my people to swear by Baal; then shall they be built in the midst of my people. %%% Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, okulayira erinnya lyange nti Nga Mukama bw'ali omulamu; era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange. 24JER012.017 But if they will not obey, I will utterly pluck up and destroy that nation, saith the LORD. %%% Naye bwe batalikkiriza kuwulira, awo ndisimbula eggwanga eryo, nga nsimbula era nga ndizikiriza, bw'ayogera Mukama. 24JER013.001 Thus saith the LORD unto me, Go and get thee a linen girdle, and put it upon thy loins, and put it not in water. %%% Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti Genda weegulire olukoba lw'eddiba, weesibe mu kiwato kyo, so tolunnyika mu mazzi. 24JER013.002 So I got a girdle according to the word of the LORD, and put it on my loins. %%% Awo ne nneegulira olukoba, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama; ne ndwesiba mu kiwato kyange. 24JER013.003 And the word of the LORD came unto me the second time, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw'okubiri nga kyogera nti 24JER013.004 Take the girdle that thou hast got, which is upon thy loins, and arise, go to Euphrates, and hide it there in a hole of the rock. %%% Ddira olukoba lwe wagula oluli mu kiwato kyo, ogolokoke ogende ku Fulaati, olukisize eyo mu bunnya obw'omu lwazi. 24JER013.005 So I went, and hid it by Euphrates, as the LORD commanded me. %%% Awo ne ŋŋenda ne ndukwekera ku Fulaati, nga Mukama bwe yandagira. 24JER013.006 And it came to pass after many days, that the LORD said unto me, Arise, go to Euphrates, and take the girdle from thence, which I commanded thee to hide there. %%% Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ogende ku Fulaati oggyeyo olukoba lwe nnakulagira okulukisiza eyo. 24JER013.007 Then I went to Euphrates, and digged, and took the girdle from the place where I had hid it: and, behold, the girdle was marred, it was profitable for nothing. %%% Awo ne ŋŋenda ku Fulaati ne nsima ne nziya olukoba mu kifo mwe nnali ndukisirizza: kale, laba, olukoba nga lwonoonese, nga teruliiko kye lugasa. 24JER013.008 Then the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 24JER013.009 Thus saith the LORD, After this manner will I mar the pride of Judah, and the great pride of Jerusalem. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndyonoona amalala ga Yuda n'amalala amangi aga Yerusaalemi. 24JER013.010 This evil people, which refuse to hear my words, which walk in the imagination of their heart, and walk after other gods, to serve them, and to worship them, shall even be as this girdle, which is good for nothing. %%% Abantu bano ababi abagaana okuwulira ebigambo byange, abatambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'olukoba luno olutaliiko kye lugasa. 24JER013.011 For as the girdle cleaveth to the loins of a man, so have I caused to cleave unto me the whole house of Israel and the whole house of Judah, saith the LORD; that they might be unto me for a people, and for a name, and for a praise, and for a glory: but they would not hear. %%% Kuba olukoba nga bwe lwegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo bwe nneegasse nange ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda, bw'ayogera Mukama; balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erinnya era ettendo era ekitiibwa: naye ne batayagala kuwulira. 24JER013.012 Therefore thou shalt speak unto them this word; Thus saith the LORD God of Israel, Every bottle shall be filled with wine: and they shall say unto thee, Do we not certainly know that every bottle shall be filled with wine? %%% Kyoliva obagamba ekigambo kino nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Buli kita kirijjula omwenge nabo balikugamba nti Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge. 24JER013.013 Then shalt thou say unto them, Thus saith the LORD, Behold, I will fill all the inhabitants of this land, even the kings that sit upon David's throne, and the priests, and the prophets, and all the inhabitants of Jerusalem, with drunkenness. %%% Awo n'olyoka obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndijjuza obutamiivu bonna abali mu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, ne bakabona ne bannabbi, ne bonna abali mi Yerusaalemi. 24JER013.014 And I will dash them one against another, even the fathers and the sons together, saith the LORD: I will not pity, nor spare, nor have mercy, but destroy them. %%% Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama: sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, nneme okubazikiriza. 24JER013.015 Hear ye, and give ear; be not proud: for the LORD hath spoken. %%% Muwulire, mutege amatu; temuba na malala: kubanga Mukama ayogedde. 24JER013.016 Give glory to the LORD your God, before he cause darkness, and before your feet stumble upon the dark mountains, and, while ye look for light, he turn it into the shadow of death, and make it gross darkness. %%% Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte. 24JER013.017 But if ye will not hear it, my soul shall weep in secret places for your pride; and mine eye shall weep sore, and run down with tears, because the LORD's flock is carried away captive. %%% Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeene yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa. 24JER013.018 Say unto the king and to the queen, Humble yourselves, sit down: for your principalities shall come down, even the crown of your glory. %%% Gamba kabaka ne nnamasole nti Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, engule ey'ekitiibwa kyammwe: 24JER013.019 The cities of the south shall be shut up, and none shall open them: Judah shall be carried away captive all of it, it shall be wholly carried away captive. %%% Ebibuga eby'obukiika obwa ddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo: Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe. 24JER013.020 Lift up your eyes, and behold them that come from the north: where is the flock that was given thee, thy beautiful flock? %%% Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiika obwa kkono: ekisibo kye waweebwa kiri ludda wa, ekisibo kyo ekirungi? 24JER013.021 What wilt thou say when he shall punish thee? for thou hast taught them to be captains, and as chief over thee: shall not sorrows take thee, as a woman in travail? %%% Olyogera otya, bw'alikuteekako mikwano gyo okuba omutwe, kubanga ggwe kennyini ggwe wabayigiriza okukukola obubi? obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala? 24JER013.022 And if thou say in thine heart, Wherefore come these things upon me? For the greatness of thine iniquity are thy skirts discovered, and thy heels made bare. %%% Era bw'onooyogerera mu mutima gwo nti Ebigambo bino binjijiridde lwaki? olw'obutali butuukirivu bwo kubanga bungi, ebirenge byo kyebivudde bibikkulwako, n'ebisinziiro byo bigirirwa ekyejo. 24JER013.023 Can the Ethiopian change his skin, or the leopard his spots? then may ye also do good, that are accustomed to do evil. %%% Omuwesiyopya ayinza okuwaanyisa omubiri gwe, oba ngo amabala gaayo? kale nammwe muyinza okukola obulungi abaamanyiira okukola obubi. 24JER013.024 Therefore will I scatter them as the stubble that passeth away by the wind of the wilderness. %%% Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro ebivaawo olw'embuyaga ez'omu ddungu. 24JER013.025 This is thy lot, the portion of thy measures from me, saith the LORD; because thou hast forgotten me, and trusted in falsehood. %%% Kano ke kalulu ko, omugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba. 24JER013.026 Therefore will I discover thy skirts upon thy face, that thy shame may appear. %%% Nange kyendiva mbikkula ku birenge byo ku maaso go, n'ensonyi zo zirirabika. 24JER013.027 I have seen thine adulteries, and thy neighings, the lewdness of thy whoredom, and thine abominations on the hills in the fields. Woe unto thee, O Jerusalem! wilt thou not be made clean? when shall it once be? %%% Nalaba emizizo gyo, obwenzi bwo n'okubebera kwo, obukaba obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ai Yerusaalemi toyagala kulongoosebwa; ebyo birituusa wa okubaawo nate? 24JER014.001 The word of the LORD that came to Jeremiah concerning the dearth. %%% Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya ekyayogera ku kyanda bwe kiri. 24JER014.002 Judah mourneth, and the gates thereof languish; they are black unto the ground; and the cry of Jerusalem is gone up. %%% Yuda awuubaala, n'enzigi zaayo ziyongobera, batuula ku ttaka nga bambadde ebiddugala; n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye. 24JER014.003 And their nobles have sent their little ones to the waters: they came to the pits, and found no water; they returned with their vessels empty; they were ashamed and confounded, and covered their heads. %%% N'abakungu baabwe batuma abaana baabwe abato emugga: batuuka ku binnya, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga njereere: ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe. 24JER014.004 Because the ground is chapt, for there was no rain in the earth, the plowmen were ashamed, they covered their heads. %%% Olw'ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe. 24JER014.005 Yea, the hind also calved in the field, and forsook it, because there was no grass. %%% Weewaawo, n'empeewo eri ku ttale ezaala, n'ereka omwana gwayo olw'obutabaawo muddo. 24JER014.006 And the wild asses did stand in the high places, they snuffed up the wind like dragons; their eyes did fail, because there was no grass. %%% N'entulege ziyimirira ku nsozi ez'obweru, ziwejjerawejjera empewo ng'ebibe; amaaso gaazo gaziba olw'obutabaawo bimera. 24JER014.007 O LORD, though our iniquities testify against us, do thou it for thy name's sake: for our backslidings are many; we have sinned against thee. %%% Obutali butuukirivu bwaffe newakubadde nga butulumiriza, kola omulimu olw'erinnya lyo, ai Mukama: kubanga okudda kwaffe ennyuma kungi; twakwonoona. 24JER014.008 O the hope of Israel, the saviour thereof in time of trouble, why shouldest thou be as a stranger in the land, and as a wayfaring man that turneth aside to tarry for a night? %%% Ai, ggwe essuubi lya Isiraeri, amulokolera mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze akyama okukeesa obudde? 24JER014.009 Why shouldest thou be as a man astonied, as a mighty man that cannot save? yet thou, O LORD, art in the midst of us, and we are called by thy name; leave us not. %%% Wandibeeredde ki ng'omuntu asamaaliridde, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? era naye ggwe, ai Mukama, oli wakati mu ffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka. 24JER014.010 Thus saith the LORD unto this people, Thus have they loved to wander, they have not refrained their feet, therefore the LORD doth not accept them; he will now remember their iniquity, and visit their sins. %%% Bw'ati Mukama bw'agamba abantu bano nti Bwe batyo bwe baayagalanga okuwaba; tebaziyizanga bigere byabwe: Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe. 24JER014.011 Then said the LORD unto me, Pray not for this people for their good. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Tosabira bantu bano baweebwe ebirungi. 24JER014.012 When they fast, I will not hear their cry; and when they offer burnt offering and an oblation, I will not accept them: but I will consume them by the sword, and by the famine, and by the pestilence. %%% Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli. 24JER014.013 Then said I, Ah, Lord GOD! behold, the prophets say unto them, Ye shall not see the sword, neither shall ye have famine; but I will give you assured peace in this place. %%% Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi babagamba nti Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino. 24JER014.014 Then the LORD said unto me, The prophets prophesy lies in my name: I sent them not, neither have I commanded them, neither spake unto them: they prophesy unto you a false vision and divination, and a thing of nought, and the deceit of their heart. %%% Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti Bannabi balagulira eby’obulimba mu linnya lyange: saabalagira so saayogera nabo: babalagula okwolesebwa okw'obulimba n'obulaguzi n'ekigambo ekitaliimu n'obukuusa obw'omu mutima gwabwe bo. 24JER014.015 Therefore thus saith the LORD concerning the prophets that prophesy in my name, and I sent them not, yet they say, Sword and famine shall not be in this land; By sword and famine shall those prophets be consumed. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi abalagulira mu linnya lyange so saabatuma, naye ne boogera nti Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno: nti Ekitala n'enjala bye birizikiza bannabbi abo. 24JER014.016 And the people to whom they prophesy shall be cast out in the streets of Jerusalem because of the famine and the sword; and they shall have none to bury them, them, their wives, nor their sons, nor their daughters: for I will pour their wickedness upon them. %%% N'abantu be balagula balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaslemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe newakubadde batabani baabwe newakubadde bawala baabwe: kubanga ndifuka ku bo obubi bwabwe. 24JER014.017 Therefore thou shalt say this word unto them; Let mine eyes run down with tears night and day, and let them not cease: for the virgin daughter of my people is broken with a great breach, with a very grievous blow. %%% Era olibagamba ekigambo kino nti Amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro so galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja awaguddwamu ekituli kinene, ekiwundu kibi nnyo nnyini. 24JER014.018 If I go forth into the field, then behold the slain with the sword! and if I enter into the city, then behold them that are sick with famine! yea, both the prophet and the priest go about into a land that they know not. %%% Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala kubanga nnabbi era ne kabona batambulira mu nsi so tebalina kumanya. 24JER014.019 Hast thou utterly rejected Judah? hath thy soul lothed Zion? why hast thou smitten us, and there is no healing for us? we looked for peace, and there is no good; and for the time of healing, and behold trouble! %%% Ogaanidde ddala Yuda? emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? otufumitidde ki, so tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi ebyajjanga; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, okukeŋŋentererwa. 24JER014.020 We acknowledge, O LORD, our wickedness, and the iniquity of our fathers: for we have sinned against thee. %%% Ai Mukama, tuukiriza obubi bwaffe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: kubanga twakwonoona. 24JER014.021 Do not abhor us, for thy name's sake, do not disgrace the throne of thy glory: remember, break not thy covenant with us. %%% Totutamwa olw'erinnya lyo; tovumisa ntebe ya kitiibwa kyo: jjukira, tomenya ndagaano gye walagaana naffe. 24JER014.022 Are there any among the vanities of the Gentiles that can cause rain? or can the heavens give showers? art not thou he, O LORD our God? therefore we will wait upon thee: for thou hast made all these things. %%% Mu birerya by'ab'amawanga mulimu ebiyinza okutonnyesa enkuba? oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? si ggwe wuuyo, ai Mukama Katonda waffe? kyetunaavanga tukulindirira ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna. 24JER015.001 Then said the LORD unto me, Though Moses and Samuel stood before me, yet my mind could not be toward this people: cast them out of my sight, and let them go forth. %%% Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Musa ne Samwiri newakubadde nga bayimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano: bagobe mu maaso gange, baveewo. 24JER015.002 And it shall come to pass, if they say unto thee, Whither shall we go forth? then thou shalt tell them, Thus saith the LORD; Such as are for death, to death; and such as are for the sword, to the sword; and such as are for the famine, to the famine; and such as are for the captivity, to the captivity. %%% Awo olulituuka bwe balikugamba nti Tunadda wa nga tuvuddewo? kale n'obagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa. 24JER015.003 And I will appoint over them four kinds, saith the LORD: the sword to slay, and the dogs to tear, and the fowls of the heaven, and the beasts of the earth, to devour and destroy. %%% Era ndibateekerawo engeri nnya, bw'ayogera Mukama: ekitala okutta, n'embwa okutaagula, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza. 24JER015.004 And I will cause them to be removed into all kingdoms of the earth, because of Manasseh the son of Hezekiah king of Judah, for that which he did in Jerusalem. %%% Era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi, olwa Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda olw'ekyo kye yakolera mu Yerusaalemi. 24JER015.005 For who shall have pity upon thee, O Jerusalem? or who shall bemoan thee? or who shall go aside to ask how thou doest? %%% Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? oba ani alikukungubagira? oba ani alikyama okubuuza ebifa gy'oli? 24JER015.006 Thou hast forsaken me, saith the LORD, thou art gone backward: therefore will I stretch out my hand against thee, and destroy thee; I am weary with repenting. %%% Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze ennyuma; kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okwejjusa. 24JER015.007 And I will fan them with a fan in the gates of the land; I will bereave them of children, I will destroy my people, since they return not from their ways. %%% Era n'abawujjira n'ekiwujjo mu miryango egy'ensi: mbaggyeeko abaana, nzikirizza abantu bange; tebaddanga okuva mu makubo gaabwe. 24JER015.008 Their widows are increased to me above the sand of the seas: I have brought upon them against the mother of the young men a spoiler at noonday: I have caused him to fall upon it suddenly, and terrors upon the city. %%% Bannamwandu baabwe beeyongedde gye ndi okusinga omusenyu ogw'ennyanja: ndeese ku bo ku nnyina w'abalenzi omunyazi mu ttuntu: mugwisizzaako obubalagaze n'ebitiisa nga tamanyiridde. 24JER015.009 She that hath borne seven languisheth: she hath given up the ghost; her sun is gone down while it was yet day: she hath been ashamed and confounded: and the residue of them will I deliver to the sword before their enemies, saith the LORD. %%% Eyazaala omusanvu ayongobera; atadde obulamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde: n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama. 24JER015.010 Woe is me, my mother, that thou hast borne me a man of strife and a man of contention to the whole earth! I have neither lent on usury, nor men have lent to me on usury; yet every one of them doth curse me. %%% Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira, 24JER015.011 The LORD said, Verily it shall be well with thy remnant; verily I will cause the enemy to entreat thee well in the time of evil and in the time of affliction. %%% Mukama yayogera nti Mazima ndikuwa amaanyi olw'obulungi; mazima ndikwegayiriza omulabe mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu. 24JER015.012 Shall iron break the northern iron and the steel? %%% Omuntu ayinza okumenya ekyuma, ekyuma ekiva obukiika obwa kkono, n'ekikomo? 24JER015.013 Thy substance and thy treasures will I give to the spoil without price, and that for all thy sins, even in all thy borders. %%% Ebintu byo n'obugagga bwo ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, mu nsalo zo zonna. 24JER015.014 And I will make thee to pass with thine enemies into a land which thou knowest not: for a fire is kindled in mine anger, which shall burn upon you. %%% Era ndibiyisa wamu n'abalabe bo okugenda mu nsi gy'otomanyi: kubanga omuliro gukutte olw'obusungu bwange ogulibaakirako. 24JER015.015 O LORD, thou knowest: remember me, and visit me, and revenge me of my persecutors; take me not away in thy longsuffering: know that for thy sake I have suffered rebuke. %%% Ai Mukama, ggwe omanyi: njijukira onjijire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; tonzigirawo ddala olw'okugumiikiriza kwo: manya nga nvumiddwa okunnanga ggwe. 24JER015.016 Thy words were found, and I did eat them; and thy word was unto me the joy and rejoicing of mine heart: for I am called by thy name, O LORD God of hosts. %%% Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n'ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n'okusanyuka kw'omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow'eggye. 24JER015.017 I sat not in the assembly of the mockers, nor rejoiced; I sat alone because of thy hand: for thou hast filled me with indignation. %%% Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so saasanyuka: natuula nzekka olw'omukono gwo; kubanga onjijuzizza okunyiiga. 24JER015.018 Why is my pain perpetual, and my wound incurable, which refuseth to be healed? wilt thou be altogether unto me as a liar, and as waters that fail? %%% Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, ekigaana okulogebwa? kazzi oliba gye ndi ng'akagga akalimba, ng'amazzi agaggwaawo? 24JER015.019 Therefore thus saith the LORD, If thou return, then will I bring thee again, and thou shalt stand before me: and if thou take forth the precious from the vile, thou shalt be as my mouth: let them return unto thee; but return not thou unto them. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange: balidda gy'oli naye ggwe toddanga gye bali. 24JER015.020 And I will make thee unto this people a fenced brasen wall: and they shall fight against thee, but they shall not prevail against thee: for I am with thee to save thee and to deliver thee, saith the LORD. %%% Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama. 24JER015.021 And I will deliver thee out of the hand of the wicked, and I will redeem thee out of the hand of the terrible. %%% Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa. 24JER016.001 The word of the LORD came also unto me, saying, %%% Era ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti 24JER016.002 Thou shalt not take thee a wife, neither shalt thou have sons or daughters in this place. %%% Towasanga mukazi, so tozaalira baana ba bulenzi newakubadde ab'obuwala mu kifo kino. 24JER016.003 For thus saith the LORD concerning the sons and concerning the daughters that are born in this place, and concerning their mothers that bare them, and concerning their fathers that begat them in this land; %%% Kubanga Mukama bw'ayogera bw'ati eby'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino n'ebya bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababazaalira mu nsi muno, nti 24JER016.004 They shall die of grievous deaths; they shall not be lamented; neither shall they be buried; but they shall be as dung upon the face of the earth: and they shall be consumed by the sword, and by famine; and their carcases shall be meat for the fowls of heaven, and for the beasts of the earth. %%% Balifa bubi; tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku maaso g'ettaka: era balimalibwawo n'ekitala n'enjala n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi. 24JER016.005 For thus saith the LORD, Enter not into the house of mourning, neither go to lament nor bemoan them: for I have taken away my peace from this people, saith the LORD, even lovingkindness and mercies. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Toyingira mu nnyumba mwe bakungubagira, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira: kubanga nziye emirembe gyange ku bantu bano, bw'ayogera Mukama, mbaggyeeko ekisa n'okusaasira okulungi. 24JER016.006 Both the great and the small shall die in this land: they shall not be buried, neither shall men lament for them, nor cut themselves, nor make themselves bald for them: %%% Abakulu era n'abato balifiira mu nsi eno: tebaliziikibwa so n'abantu tebalibakungubagira, so tebalyesala so tebalibeemwerera: 24JER016.007 Neither shall men tear themselves for them in mourning, to comfort them for the dead; neither shall men give them the cup of consolation to drink for their father or for their mother. %%% so abantu tebalibabegera mmere nga babakaabira, okubakubagiza olw'abafu; so abantu tebalibawa kikompe kya kusanyusa okunywa olwa kitaabwe oba olwa nnyaabwe. 24JER016.008 Thou shalt not also go into the house of feasting, to sit with them to eat and to drink. %%% So toliyingira mu nnyumba mwe baliira embaga, okutuula nabo, okulya n'okunywa. 24JER016.009 For thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will cause to cease out of this place in your eyes, and in your days, the voice of mirth, and the voice of gladness, the voice of the bridegroom, and the voice of the bride. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole. 24JER016.010 And it shall come to pass, when thou shalt shew this people all these words, and they shall say unto thee, Wherefore hath the LORD pronounced all this great evil against us? or what is our iniquity? or what is our sin that we have committed against the LORD our God? %%% Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti Kiki ekyogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene eri ffe? oba atulanga ki? oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe? 24JER016.011 Then shalt thou say unto them, Because your fathers have forsaken me, saith the LORD, and have walked after other gods, and have served them, and have worshipped them, and have forsaken me, and have not kept my law; %%% kale n'olyoka obagamba nti Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange; 24JER016.012 And ye have done worse than your fathers; for, behold, ye walk every one after the imagination of his evil heart, that they may not hearken unto me: %%% nammwe mwakola bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli n'okuwulira ne mutampulira 24JER016.013 Therefore will I cast you out of this land into a land that ye know not, neither ye nor your fathers; and there shall ye serve other gods day and night; where I will not shew you favour. 24JER016.013 kyendiva mbagoba mu nsi eno okugenda mu nsi gye mutamanyanga, mmwe newakubadde bajjajjammwe; era munaaweererezanga eyo bakatonda abalala emisana n'ekiro; kubanga siribalaga kisa n'akatono. 24JER016.014 Therefore, behold, the days come, saith the LORD, that it shall no more be said, The LORD liveth, that brought up the children of Israel out of the land of Egypt; %%% Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe batakyayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri; 24JER016.015 But, The LORD liveth, that brought up the children of Israel from the land of the north, and from all the lands whither he had driven them: and I will bring them again into their land that I gave unto their fathers. %%% naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde: era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe. 24JER016.016 Behold, I will send for many fishers, saith the LORD, and they shall fish them; and after will I send for many hunters, and they shall hunt them from every mountain, and from every hill, and out of the holes of the rocks. %%% Laba, nditumya abavubi bangi, bw'ayogera Mukama, era balibavuba; oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, era balibayigga okubaggya ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu bunnya obw'omu mayinja. 24JER016.017 For mine eyes are upon all their ways: they are not hid from my face, neither is their iniquity hid from mine eyes. %%% Kubanga amaaso gange gatunuulira amakubo gaabwe gonna: tegakisibwa bwenyi bwange, so n'obutali butuukirivu bwabwe tebukwekebwa maaso gange. 24JER016.018 And first I will recompense their iniquity and their sin double; because they have defiled my land, they have filled mine inheritance with the carcases of their detestable and abominable things. %%% Era okusooka ndisasula obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe emirundi ebiri; kubanga bayonoona ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebivve, era bajjuzizza obusika bwange emizizo gyabwe. 24JER016.019 O LORD, my strength, and my fortress, and my refuge in the day of affliction, the Gentiles shall come unto thee from the ends of the earth, and shall say, Surely our fathers have inherited lies, vanity, and things wherein there is no profit. %%% Ai Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku nnaku olw'okulabiramu ennaku, eri gwe amawanga gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa. 24JER016.020 Shall a man make gods unto himself, and they are no gods? %%% Omuntu alyekolera bakatonda, era abatali bakatonda? 24JER016.021 Therefore, behold, I will this once cause them to know, I will cause them to know mine hand and my might; and they shall know that my name is The LORD. %%% Kale, laba, ndibamanyisa, omulundi guno gwokka ndibamanyisa omukono gwange n'amaanyi gange; era balimanya ng'erinnya lyange Yakuwa. 24JER017.001 The sin of Judah is written with a pen of iron, and with the point of a diamond: it is graven upon the table of their heart, and upon the horns of your altars; %%% Ekibi kya Yuda kyawandiikibwa n'ekkalaamu ey'ekyuma ejjinja erya alimasi essongovu: kyayolebwa ku kipande eky'omutima gwabwe, ne ku mayembe g'ebyoto byammwe; 24JER017.002 Whilst their children remember their altars and their groves by the green trees upon the high hills. %%% abaana baabwe nga bwe bajjukira ebyoto byabwe ne Baasera baabwe awali emiti egimera ku nsozi empanvu. 24JER017.003 O my mountain in the field, I will give thy substance and all thy treasures to the spoil, and thy high places for sin, throughout all thy borders. %%% Ai olusozi lwange oluli mu nnimiro, ndigabula ebintu byo n'obugagga bwo bwonna okuba omunyago, n'ebifo byo ebigulumivu olw'okwonoona, mu nsalo zo zonna. 24JER017.004 And thou, even thyself, shalt discontinue from thine heritage that I gave thee; and I will cause thee to serve thine enemies in the land which thou knowest not: for ye have kindled a fire in mine anger, which shall burn for ever. %%% Naawe olivaamu ku bubwo wekka mu busika bwo bwe nnakuwa; era ndikuweerezesa abalabe bo mu nsi gy'otomanyi: kubanga mukumye omuliro mu busungu bwange obunaabuubuukanga emirembe gyonna. 24JER017.005 Thus saith the LORD; Cursed be the man that trusteth in man, and maketh flesh his arm, and whose heart departeth from the LORD. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n'afuula omubiri okuba omukono gwe, n'omutima gwe guva ku Mukama. 24JER017.006 For he shall be like the heath in the desert, and shall not see when good cometh; but shall inhabit the parched places in the wilderness, in a salt land and not inhabited. %%% Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi bwe birijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey'omuunyo so eteriimu bantu. 24JER017.007 Blessed is the man that trusteth in the LORD, and whose hope the LORD is. %%% Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye. 24JER017.008 For he shall be as a tree planted by the waters, and that spreadeth out her roots by the river, and shall not see when heat cometh, but her leaf shall be green; and shall not be careful in the year of drought, neither shall cease from yielding fruit. %%% Kubanga aliba ng'omuti ogwasimbibwa awali amazzi, ne gulanda emmizi gyagwo awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galiyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw'ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala. 24JER017.009 The heart is deceitful above all things, and desperately wicked: who can know it? %%% Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya? 24JER017.010 I the LORD search the heart, I try the reins, even to give every man according to his ways, and according to the fruit of his doings. %%% Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa bye. 24JER017.011 As the partridge sitteth on eggs, and hatcheth them not; so he that getteth riches, and not by right, shall leave them in the midst of his days, and at his end shall be a fool. %%% Ng'enkwale bw'ekuŋŋaanya obwana bw'etezaalanga, bw'atyo bw'abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; ennaku ze nga zikyali za kitundu bulimuvaako, ne ku nkomerero ye aliba musirusiru. 24JER017.012 A glorious high throne from the beginning is the place of our sanctuary. %%% Ekifo eky'awatukuvu waffe ye ntebe ey'ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye. 24JER017.013 O LORD, the hope of Israel, all that forsake thee shall be ashamed, and they that depart from me shall be written in the earth, because they have forsaken the LORD, the fountain of living waters. %%% Ai Mukama, essuubi lya Isiraeri, bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi; abansenguka baliwandiikibwa ku ttaka, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw'amazzi amalamu. 24JER017.014 Heal me, O LORD, and I shall be healed; save me, and I shall be saved: for thou art my praise. %%% Mponya, ai Mukama, kale lwe nnaawona; ndokola, kale lwe nnaalokoka: kubanga ggwe oli ttendo lyange. 24JER017.015 Behold, they say unto me, Where is the word of the LORD? let it come now. %%% Laba, baŋŋamba nti Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa? kijje nno. 24JER017.016 As for me, I have not hastened from being a pastor to follow thee: neither have I desired the woeful day; thou knowest: that which came out of my lips was right before thee. %%% Nze ku bwange seeyuna obutaba musumba ennyuma wo; so seegombanga olunaku olw'okulabiramu ennaku; ggwe omanyi: ekyava mu mimwa gyange kyabanga mu maaso go. 24JER017.017 Be not a terror unto me: thou art my hope in the day of evil. %%% Tobeera ntiisa gye ndi: ggwe oli buddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu obubi. 24JER017.018 Let them be confounded that persecute me, but let not me be confounded: let them be dismayed, but let not me be dismayed: bring upon them the day of evil, and destroy them with double destruction. %%% Bakwatibwe ensonyi abo abanjigganya, naye nze nneme okukwatibwa ensonyi; bo bakeŋŋentererwe, naye nze nneme okukeŋŋentererwa: baleeteko olunaku olw'okulabiramu obubi, obazikirize okuzikirira okw'emirundi ebiri. 24JER017.019 Thus said the LORD unto me; Go and stand in the gate of the children of the people, whereby the kings of Judah come in, and by the which they go out, and in all the gates of Jerusalem; %%% Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti Genda oyimirire mu mulyango ogw'abaana b'abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira era mwe bafulumira ne mu miryango gyonna egy'e Yerusaalemi; 24JER017.020 And say unto them, Hear ye the word of the LORD, ye kings of Judah, and all Judah, and all the inhabitants of Jerusalem, that enter in by these gates: %%% obagambe nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bakabaka ba Yuda, ne Yuda yenna ne bonna abali mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino: 24JER017.021 Thus saith the LORD; Take heed to yourselves, and bear no burden on the sabbath day, nor bring it in by the gates of Jerusalem; %%% bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mwekuume muleme okusituliranga ku lunaku lwa ssabbiiti omugugu gwonna, so temuguyingirizanga mu miryango egy'e Yerusaalemi; 24JER017.022 Neither carry forth a burden out of your houses on the sabbath day, neither do ye any work, but hallow ye the sabbath day, as I commanded your fathers. %%% so temuggyanga mugugu mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa ssabbiiti, so temukolanga mulimu gwonna : naye mutukuzanga olunaku olwa ssabbiiti nga bwe nnalagira bajjajjammwe; 24JER017.023 But they obeyed not, neither inclined their ear, but made their neck stiff, that they might not hear, nor receive instruction. %%% naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe baleme okuwulira era baleme okukkiriza okuyigirizibwa. 24JER017.024 And it shall come to pass, if ye diligently hearken unto me, saith the LORD, to bring in no burden through the gates of this city on the sabbath day, but hallow the sabbath day, to do no work therein; %%% Awo olulituuka, bwe munaanyiikiranga okumpulira, bw'ayogera Mukama, obutaleetanga mugugu gwonna okuguyisa mu miryango gy'ekibuga kino ku lunaku olwa ssabbiiti, naye bwe munaatukuzanga olunaku olwa ssabbiiti obutalukolerangako mulimu gwonna; 24JER017.025 Then shall there enter into the gates of this city kings and princes sitting upon the throne of David, riding in chariots and on horses, they, and their princes, the men of Judah, and the inhabitants of Jerusalem: and this city shall remain for ever. %%% kale mu miryango gy'ekibuga kino munaayingirangamu bakabaka n'abalangira abatudde ku ntebe ya Dawudi, nga bali ku magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n'abakungu baabwe, abasajja ba Yuda n'abaliba mu Yerusaalemi: n'ekibuga kino kinaabanga kya lubeerera. 24JER017.026 And they shall come from the cities of Judah, and from the places about Jerusalem, and from the land of Benjamin, and from the plain, and from the mountains, and from the south, bringing burnt offerings, and sacrifices, and meat offerings, and incense, and bringing sacrifices of praise, unto the house of the LORD. %%% Era balijja nga bavudde mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi ne mu nsi ya Benyamini ne mu nsi ey'ensenyi ne ku nsozi ne mu bukiika obwa ddyo, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka n'ebitone n'omugavu, era nga baleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 24JER017.027 But if ye will not hearken unto me to hallow the sabbath day, and not to bear a burden, even entering in at the gates of Jerusalem on the sabbath day; then will I kindle a fire in the gates thereof, and it shall devour the palaces of Jerusalem, and it shall not be quenched. %%% Naye bwe mutampulirenga okutukuza olunaku olwa ssabbiiti, obutatwalanga mugugu newakubadde okuyingiriranga mu miryango gy'e Yerusaalemi ku lunaku olwa sabbiiti; kale ndikumira omuliro mu miryango gyakyo, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi, so tegulizikizibwa. 24JER018.001 The word which came to Jeremiah from the LORD, saying, %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nti 24JER018.002 Arise, and go down to the potter's house, and there I will cause thee to hear my words. %%% Golokoka oserengete eri ennyumba ey'omubumbi, era eyo gye nnaakuwuliriza ebigambo byange. 24JER018.003 Then I went down to the potter's house, and, behold, he wrought a work on the wheels. %%% Awo ne nserengeta eri ennyumba ey'omubumbi, kale, laba, ng'akolera omulimu gwe ku bannamuziga. 24JER018.004 And the vessel that he made of clay was marred in the hand of the potter: so he made it again another vessel, as seemed good to the potter to make it. %%% Awo ekintu kye yali akola n'ebbumba bwe kyayonoonekera mu mukono gw'omubumbi, n'akibumba nate okuba ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiima okukibumba. 24JER018.005 Then the word of the LORD came to me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 24JER018.006 O house of Israel, cannot I do with you as this potter? saith the LORD. Behold, as the clay is in the potter's hand, so are ye in mine hand, O house of Israel. %%% Ai ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? bw'ayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ai ennyumba ya Isiraeri. 24JER018.007 At what instant I shall speak concerning a nation, and concerning a kingdom, to pluck up, and to pull down, and to destroy it; %%% Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza; 24JER018.008 If that nation, against whom I have pronounced, turn from their evil, I will repent of the evil that I thought to do unto them. %%% eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola. 24JER018.009 And at what instant I shall speak concerning a nation, and concerning a kingdom, to build and to plant it; %%% Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okulizimba n'okulisimba; 24JER018.010 If it do evil in my sight, that it obey not my voice, then I will repent of the good, wherewith I said I would benefit them. %%% bwe lirikola obubi mu maaso gange, obutawulira ddoboozi lyange, kale ndyejjusa obulungi bwe nnayogera okukola okubagasa. 24JER018.011 Now therefore go to, speak to the men of Judah, and to the inhabitants of Jerusalem, saying, Thus saith the LORD; Behold, I frame evil against you, and devise a device against you: return ye now every one from his evil way, and make your ways and your doings good. %%% Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, mbateesezzaako obubi era mbasalira amagezi: mukomeewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe. 24JER018.012 And they said, There is no hope: but we will walk after our own devices, and we will every one do the imagination of his evil heart. %%% Naye ne boogera nti Tewali ssuubi: kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli. 24JER018.013 Therefore thus saith the LORD; Ask ye now among the heathen, who hath heard such things: the virgin of Israel hath done a very horrible thing. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mubuuze nno mu mawanga eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo; omuwala wa Isiraeri akoze ekigambo eky'ekivve ennyo. 24JER018.014 Will a man leave the snow of Lebanon which cometh from the rock of the field? or shall the cold flowing waters that come from another place be forsaken? %%% Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira? 24JER018.015 Because my people hath forgotten me, they have burned incense to vanity, and they have caused them to stumble in their ways from the ancient paths, to walk in paths, in a way not cast up; %%% Kubanga abantu bange banneerabidde, bookerezza obubaane ebitaliimu; era babeesittazizza mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, okutambulira mu mpenda, mu kkubo eritali ssende; 24JER018.016 To make their land desolate, and a perpetual hissing; every one that passeth thereby shall be astonished, and wag his head. %%% okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe. 24JER018.017 I will scatter them as with an east wind before the enemy; I will shew them the back, and not the face, in the day of their calamity. %%% Ndibasaasaanya nga n'embuyaga eziva ebuvanjuba mu maaso g'omulabe; nditunuulira amabega gaabwe so si maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike. 24JER018.018 Then said they, Come, and let us devise devices against Jeremiah; for the law shall not perish from the priest, nor counsel from the wise, nor the word from the prophet. Come, and let us smite him with the tongue, and let us not give heed to any of his words. %%% Awo ne balyoka boogera nti Mujje tumusalire Yeremiya amagezi; kubanga amateeka tegalibula awali kabona, newakubadde okuteesa awali ow'amagezi, newakubadde ekigambo awali nnabbi: Mujje tumukube n'olulimi, tuleme okussaayo omwoyo eri ebigambo bye n'ekimu. 24JER018.019 Give heed to me, O LORD, and hearken to the voice of them that contend with me. %%% Ssaayo omwoyo eri nze, ai Mukama, owulire eddoboozi ly'abo abampakanya. 24JER018.020 Shall evil be recompensed for good? for they have digged a pit for my soul. Remember that I stood before thee to speak good for them, and to turn away thy wrath from them. %%% Obubi bulisasulwa olw'obulungi? kubanga basimidde emmeeme yange obunnya. Jjukira bwe nnayimirira mu maaso go okuboogerera bo ebirungi okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko. 24JER018.021 Therefore deliver up their children to the famine, and pour out their blood by the force of the sword; and let their wives be bereaved of their children, and be widows; and let their men be put to death; let their young men be slain by the sword in battle. %%% Kale waayo abaana baabwe eri enjala, obagabule eri obuyinza obw'ekitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo. 24JER018.022 Let a cry be heard from their houses, when thou shalt bring a troop suddenly upon them: for they have digged a pit to take me, and hid snares for my feet. %%% Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina nga tebamanyiridde: kubanga basimye obunnya okunkwata, era bakwekedde ebigere byange ebyambika. 24JER018.023 Yet, LORD, thou knowest all their counsel against me to slay me: forgive not their iniquity, neither blot out their sin from thy sight, but let them be overthrown before thee; deal thus with them in the time of thine anger. %%% Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go: naye basuulibwe mi maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo. 24JER019.001 Thus saith the LORD, Go and get a potter's earthen bottle, and take of the ancients of the people, and of the ancients of the priests; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ey'omubumbi, otwale ku bakadde b'abantu ne ku bakadde ba bakabona; 24JER019.002 And go forth unto the valley of the son of Hinnom, which is by the entry of the east gate, and proclaim there the words that I shall tell thee, %%% ofulume okugenda mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangirire eyo ebigambo bye nnaakugamba: 24JER019.003 And say, Hear ye the word of the LORD, O kings of Judah, and inhabitants of Jerusalem; Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will bring evil upon this place, the which whosoever heareth, his ears shall tingle. %%% oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira. 24JER019.004 Because they have forsaken me, and have estranged this place, and have burned incense in it unto other gods, whom neither they nor their fathers have known, nor the kings of Judah, and have filled this place with the blood of innocents; %%% Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo bakatonda abalala obubaane, be batamanyanga bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi ogutaliiko musango; 24JER019.005 They have built also the high places of Baal, to burn their sons with fire for burnt offerings unto Baal, which I commanded not, nor spake it, neither came it into my mind: %%% era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragiranga so saakyogera so tekyayingira mu mwoyo gwange: 24JER019.006 Therefore, behold, the days come, saith the LORD, that this place shall no more be called Tophet, nor The valley of the son of Hinnom, but The valley of slaughter. %%% kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama ekifo kino lwe kitakyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu. 24JER019.007 And I will make void the counsel of Judah and Jerusalem in this place; and I will cause them to fall by the sword before their enemies, and by the hands of them that seek their lives: and their carcases will I give to be meat for the fowls of the heaven, and for the beasts of the earth. %%% Era nditta okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino; era ndibagwisa n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era n'omukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi. 24JER019.008 And I will make this city desolate, and an hissing; every one that passeth thereby shall be astonished and hiss because of all the plagues thereof. %%% Era ndifuula ekibuga kino ekyewuunyo era okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna 24JER019.009 And I will cause them to eat the flesh of their sons and the flesh of their daughters, and they shall eat every one the flesh of his friend in the siege and straitness, wherewith their enemies, and they that seek their lives, shall straiten them. %%% Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe kwe balibanyigiriza. 24JER019.010 Then shalt thou break the bottle in the sight of the men that go with thee, %%% Awo n'olyoka omenya ensumbi eyo, abasajja abagenda naawe nga balaba, 24JER019.011 And shalt say unto them, Thus saith the LORD of hosts; Even so will I break this people and this city, as one breaketh a potter's vessel, that cannot be made whole again: and they shall bury them in Tophet, till there be no place to bury. %%% n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu ky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate: era baliziikira mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu. 24JER019.012 Thus will I do unto this place, saith the LORD, and to the inhabitants thereof, and even make this city as Tophet: %%% Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino, bw'ayogera Mukama, n'abakituulamu, nga nfuula ekibuga kino okuba nga Tofesi: 24JER019.013 And the houses of Jerusalem, and the houses of the kings of Judah, shall be defiled as the place of Tophet, because of all the houses upon whose roofs they have burned incense unto all the host of heaven, and have poured out drink offerings unto other gods. %%% n'ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezoonoonese ziriba ng'ekifo Tofesi, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eggye lyonna ery'eggulu, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa. 24JER019.014 Then came Jeremiah from Tophet, whither the LORD had sent him to prophesy; and he stood in the court of the LORD's house; and said to all the people, %%% Awo Yeremiya n'ajja ng'ava e Tofesi Mukama gye yali amutumye okulagula; n'ayimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti 24JER019.015 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will bring upon this city and upon all her towns all the evil that I have pronounced against it, because they have hardened their necks, that they might not hear my words. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakyogerako; kubanga bakakanyazizza ensingo yaabwe baleme okuwulira ebigambo byange. 24JER020.001 Now Pashur the son of Immer the priest, who was also chief governor in the house of the LORD, heard that Jeremiah prophesied these things. %%% Awo Pasukuli mutabani wa Immeri kabona, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n’awulira Yeremiya ng'alagula ebyo. 24JER020.002 Then Pashur smote Jeremiah the prophet, and put him in the stocks that were in the high gate of Benjamin, which was by the house of the LORD. %%% Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi n'amusiba mu nvuba eyali mu mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama. 24JER020.003 And it came to pass on the morrow, that Pashur brought forth Jeremiah out of the stocks. Then said Jeremiah unto him, The LORD hath not called thy name Pashur, but Magormissabib. %%% Awo olwatuuka enkya Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti Mukama takutuumye linnya lyo Pasukuli wabula Magolumissabibu. 24JER020.004 For thus saith the LORD, Behold, I will make thee a terror to thyself, and to all thy friends: and they shall fall by the sword of their enemies, and thine eyes shall behold it: and I will give all Judah into the hand of the king of Babylon, and he shall carry them captive into Babylon, and shall slay them with the sword. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna: era baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba: era ndiwa Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alibatwala e Babulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala. 24JER020.005 Moreover I will deliver all the strength of this city, and all the labours thereof, and all the precious things thereof, and all the treasures of the kings of Judah will I give into the hand of their enemies, which shall spoil them, and take them, and carry them to Babylon. %%% Era nate ndiwa obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwa mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babulooni. 24JER020.006 And thou, Pashur, and all that dwell in thine house shall go into captivity: and thou shalt come to Babylon, and there thou shalt die, and shalt be buried there, thou, and all thy friends, to whom thou hast prophesied lies. %%% Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe: era olituuka e Babulooni, era olifiira eyo, era oliziikirwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagula eby'obulimba. 24JER020.007 O LORD, thou hast deceived me, and I was deceived: thou art stronger than I, and hast prevailed: I am in derision daily, every one mocketh me. %%% Ai Mukama, wannimba nze ne nnimbibwa: onsinga nze amaanyi era owangudde: nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira. 24JER020.008 For since I spake, I cried out, I cried violence and spoil; because the word of the LORD was made a reproach unto me, and a derision, daily. %%% Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu; njogerera waggulu nti Ekyejo n'okunyaga: kubanga ekigambo kya Mukama bakifuula ekivume gye ndi n'eky'okusekererwa okuzibya obudde. 24JER020.009 Then I said, I will not make mention of him, nor speak any more in his name. But his word was in mine heart as a burning fire shut up in my bones, and I was weary with forbearing, and I could not stay. %%% Era bwe njogera nti Siimwogereko so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so siyinza kubeerera awo. 24JER020.010 For I heard the defaming of many, fear on every side. Report, say they, and we will report it. All my familiars watched for my halting, saying, Peradventure he will be enticed, and we shall prevail against him, and we shall take our revenge on him. %%% Kubanga mpulidde okulyolyoma kw'abangi, entiisa enjuyi zonna. Muloope, naffe tunaamuloopa bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, bo abalabirira okuwenyera kwange; mpozzi anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga: 24JER020.011 But the LORD is with me as a mighty terrible one: therefore my persecutors shall stumble, and they shall not prevail: they shall be greatly ashamed; for they shall not prosper: their everlasting confusion shall never be forgotten. %%% Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa: abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula: baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa ensonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna. 24JER020.012 But, O LORD of hosts, that triest the righteous, and seest the reins and the heart, let me see thy vengeance on them: for unto thee have I opened my cause. %%% Naye, ai Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga nkubikkulidde ensonga yange. 24JER020.013 Sing unto the LORD, praise ye the LORD: for he hath delivered the soul of the poor from the hand of evildoers. %%% Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama: kubanga awonyezza emmeeme y'oyo eyeetaaga mu mukono gw'abo abakola obubi. 24JER020.014 Cursed be the day wherein I was born: let not the day wherein my mother bare me be blessed. %%% Olunaku kwe nnazaalirwa lukolimirwe: olunaku mmange kwe yanzaalira luleme okuweebwa omukisa. 24JER020.015 Cursed be the man who brought tidings to my father, saying, A man child is born unto thee; making him very glad. %%% Akolimirwe oyo eyamuleetera kitange ebigambo nti Ozaaliddwa mwana wa bulenzi; ng'amusanyusa nnyo. 24JER020.016 And let that man be as the cities which the LORD overthrew, and repented not: and let him hear the cry in the morning, and the shouting at noontide; %%% Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula n'ateenenya: awulire okukaaba enkya, n'okwogerera wa ggulu mu ttuntu; 24JER020.017 Because he slew me not from the womb; or that my mother might have been my grave, and her womb to be always great with me. %%% kubanga teyanzita bwe nnava mu lubuto; bw'atyo mmange yandibadde entaana yange, n'olubuto lwe lwandibadde lukulu ennaku zonna. 24JER020.018 Wherefore came I forth out of the womb to see labour and sorrow, that my days should be consumed with shame? %%% Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, ennaku zange zimalibwewo olw'ensonyi? 24JER021.001 The word which came unto Jeremiah from the LORD, when king Zedekiah sent unto him Pashur the son of Melchiah, and Zephaniah the son of Maaseiah the priest, saying, %%% Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng'ayogera nti 24JER021.002 Enquire, I pray thee, of the LORD for us; for Nebuchadrezzar king of Babylon maketh war against us; if so be that the LORD will deal with us according to all his wondrous works, that he may go up from us. %%% Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni atutabaala: mpozzi Mukama anaatukola ng'ebikolwa bye byonna eby'ekitalo bwe biri, atuveeko. 24JER021.003 Then said Jeremiah unto them, Thus shall ye say to Zedekiah: %%% Awo Yeremiya n'abagamba nti Bwe muti bwe muba mugamba Zeddekiya nti 24JER021.004 Thus saith the LORD God of Israel; Behold, I will turn back the weapons of war that are in your hands, wherewith ye fight against the king of Babylon, and against the Chaldeans, which besiege you without the walls, and I will assemble them into the midst of this city. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndizza ennyuma ebyokulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w'e Babulooni n'Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino. 24JER021.005 And I myself will fight against you with an outstretched hand and with a strong arm, even in anger, and in fury, and in great wrath. %%% Nange mwene ndirwana nammwe n'engalo ezigoloddwa n'omukono ogw'amaanyi, nga ndiko obusungu n'ekiruyi n'obukambwe obungi. 24JER021.006 And I will smite the inhabitants of this city, both man and beast: they shall die of a great pestilence. %%% Era nditta abali mu kibuga kino, abantu era n'ensolo: balifa kawumpuli mungi. 24JER021.007 And afterward, saith the LORD, I will deliver Zedekiah king of Judah, and his servants, and the people, and such as are left in this city from the pestilence, from the sword, and from the famine, into the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon, and into the hand of their enemies, and into the hand of those that seek their life: and he shall smite them with the edge of the sword; he shall not spare them, neither have pity, nor have mercy. %%% Awo oluvannyuma, bw'ayogera Mukama, ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abaddu be n'abantu, abo kawumpuli n'ekitala n'enjala be byafissaawo mu kibuga muno, mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni ne mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: era alibatta n'obwogi bw'ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talisaasira. 24JER021.008 And unto this people thou shalt say, Thus saith the LORD; Behold, I set before you the way of life, and the way of death. %%% Era ogambanga abantu bano nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa. 24JER021.009 He that abideth in this city shall die by the sword, and by the famine, and by the pestilence: but he that goeth out, and falleth to the Chaldeans that besiege you, he shall live, and his life shall be unto him for a prey. %%% Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: naye oyo avaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali. 24JER021.010 For I have set my face against this city for evil, and not for good, saith the LORD: it shall be given into the hand of the king of Babylon, and he shall burn it with fire. %%% Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino okukireetako obubi so si bulungi, bw'ayogera Mukama: kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikyokya omuliro. 24JER021.011 And touching the house of the king of Judah, say, Hear ye the word of the LORD; %%% N'eby'ennyumba ya kabaka wa Yuda, muwulire ekigambo kya Mukama: 24JER021.012 O house of David, thus saith the LORD; Execute judgment in the morning, and deliver him that is spoiled out of the hand of the oppressor, lest my fury go out like fire, and burn that none can quench it, because of the evil of your doings. %%% Mmwe ennyumba ya Dawudi, bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango enkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi, ekiruyi kyange kireme okutambula ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza, olw'obubi obw'ebikolwa byammwe. 24JER021.013 Behold, I am against thee, O inhabitant of the valley, and rock of the plain, saith the LORD; which say, Who shall come down against us? or who shall enter into our habitations? %%% Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe abeera mu kiwonvu n'awali olwazi olw'omu lusenyi, bw'ayogera Mukama; mmwe aboogera nti Ani aliserengeta okututabaala? oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe? 24JER021.014 But I will punish you according to the fruit of your doings, saith the LORD: and I will kindle a fire in the forest thereof, and it shall devour all things round about it. %% era ndibabonereza ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama: era ndikumira omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde. 24JER022.001 Thus saith the LORD; Go down to the house of the king of Judah, and speak there this word, %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Serengeta eri ennyumba ya kabaka wa Yuda, 24JER022.002 And say, Hear the word of the LORD, O king of Judah, that sittest upon the throne of David, thou, and thy servants, and thy people that enter in by these gates: %%% oyogerere eyo ekigambo kino ogambe nti Wulira ekigambo kya Mukama, ai kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n'abaddu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino. 24JER022.003 Thus saith the LORD; Execute ye judgment and righteousness, and deliver the spoiled out of the hand of the oppressor: and do no wrong, do no violence to the stranger, the fatherless, nor the widow, neither shed innocent blood in this place. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango n'eby'ensonga, muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi: so temulyazaamaanyanga, temugiriranga kyejo mugenyi newakubadde atalina kitaawe newakubadde nnamwandu, so temuyiwanga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino. 24JER022.004 For if ye do this thing indeed, then shall there enter in by the gates of this house kings sitting upon the throne of David, riding in chariots and on horses, he, and his servants, and his people. %%% Kubanga bwe mulikolera ddala ekigambo ekyo, kale muliyingirirwa mu miryango egy'ennyumba eno bassekabaka abalituula ku ntebe ya Dawudi, nga batambulira mu magaali era nga beebagala embalaasi, ye n'abaddu be n'abantu be. 24JER022.005 But if ye will not hear these words, I swear by myself, saith the LORD, that this house shall become a desolation. %%% Naye bwe mutalikkiriza kuwulira bigambo bino, neerayira nzekka, bw'ayogera Mukama, ng'ennyumba eno erifuuka matongo. 24JER022.006 For thus saith the LORD unto the king's house of Judah; Thou art Gilead unto me, and the head of Lebanon: yet surely I will make thee a wilderness, and cities which are not inhabited. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama eby'ennyumba ya kabaka wa Yuda: nti Ggwe Gireyaadi gye ndi era mutwe gwa Lebanooni: era naye sirirema kukufuula ddungu n'ebibuga omutali bantu. 24JER022.007 And I will prepare destroyers against thee, every one with his weapons: and they shall cut down thy choice cedars, and cast them into the fire. %%% Era ndikutegekera abazikiriza, buli muntu ng'alina ebintu bye ebizikiriza: era balitema emivule gyo egisinga obulungi, ne bagisuula mu muliro. 24JER022.008 And many nations shall pass by this city, and they shall say every man to his neighbour, Wherefore hath the LORD done thus unto this great city? %%% Kale amawanga mangi galiyita awali ekibuga kino, era baligambagana buli muntu munne nti Mukama kiki ekyamukoza bw'atyo ekibuga kino ekikulu? 24JER022.009 Then they shall answer, Because they have forsaken the covenant of the LORD their God, and worshipped other gods, and served them. %%% Awo ne baddamu nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama Katonda waabwe, ne basinza bakatonda abalala ne babaweereza. 24JER022.010 Weep ye not for the dead, neither bemoan him: but weep sore for him that goeth away: for he shall return no more, nor see his native country. %%% Temukaabira maziga oyo eyafa, so temumukungubagira: naye mumukaabire nnyo nnyini amaziga oyo agenda; kubanga takyadda nate so taliraba nsi y'ewaabwe. 24JER022.011 For thus saith the LORD touching Shallum the son of Josiah king of Judah, which reigned instead of Josiah his father, which went forth out of this place; He shall not return thither any more: 24JER022.011 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebya Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya kitaawe okufuga, eyagenda okuva mu kifo kino, nti Takyakomangawo nate; 24JER022.012 But he shall die in the place whither they have led him captive, and shall see this land no more. %%% naye mu kifo gye baamutwala nga musibe, omwo mwalifiira, so takyalaba nsi eno nate. 24JER022.013 Woe unto him that buildeth his house by unrighteousness, and his chambers by wrong; that useth his neighbour's service without wages, and giveth him not for his work; %%% Zimusanze oyo azimba ennyumba ye olw'obutali butuukirivu, n'ebisenge bye olw'okulya ensonga; alya emirimu gya munne awatali mpeera, so tamuwa bintu bye; 24JER022.014 That saith, I will build me a wide house and large chambers, and cutteth him out windows; and it is cieled with cedar, and painted with vermilion. %%% ayogera nti Neezimbira ennyumba engazi n'ebisenge ebinene, ne yeesaliramu ebituli; era ebikkibwako emivule, era esiigibwako ggerenge. 24JER022.015 Shalt thou reign, because thou closest thyself in cedar? did not thy father eat and drink, and do judgment and justice, and then it was well with him? %%% Olifuga kubanga oyagala okukiza banno emivule? kitaawo teyalyanga n'anywanga, n'akolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu? kale n'aba bulungi. 24JER022.016 He judged the cause of the poor and needy; then it was well with him: was not this to know me? saith the LORD. %%% Yasalanga omusango gw'omwavu n'eyeetaaga; kale n'aba bulungi. Si kwe kwali okummanya? bw'ayogera Mukama. 24JER022.017 But thine eyes and thine heart are not but for thy covetousness, and for to shed innocent blood, and for oppression, and for violence, to do it. %%% Naye amaaso go n'omutima gwo bigoberera kwegomba kwo kwokka, n'okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n'okujooga, n'ekyejo okukigiranga. 24JER022.018 Therefore thus saith the LORD concerning Jehoiakim the son of Josiah king of Judah; They shall not lament for him, saying, Ah my brother! or, Ah sister! they shall not lament for him, saying, Ah lord! or, Ah his glory! %%% Mukama kyava ayogera bw'ati ebya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nti Tebalimukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange! oba nti Woowe, mwannyinaze! tebalimukungubagira nga boogera nti Woowe, mukama wange oba nti Woowe, ekitiibwa kye! 24JER022.019 He shall be buried with the burial of an ass, drawn and cast forth beyond the gates of Jerusalem. %%% Aliziikibwa ng'endogoyi bw'eziikibwa, ewalulwa esuulibwa ebweru w'emiryango gya Yerusaalemi. 24JER022.020 Go up to Lebanon, and cry; and lift up thy voice in Bashan, and cry from the passages: for all thy lovers are destroyed. %%% Linnya ku Lebanooni okaabe oyimuse eddoboozi lyo mu Basani okaabe ng'oyima ku Abalimu; kubanga baganzi bo bonna bazikiridde. 24JER022.021 I spake unto thee in thy prosperity; but thou saidst, I will not hear. This hath been thy manner from thy youth, that thou obeyedst not my voice. %%% Nayogera naawe bwe wali ng'olaba omukisa; naye n'oyogera nti Siiwulire. Eyo ye yabanga empisa yo okuva mu buto bwo, obutagonderanga ddoboozi lyange. 24JER022.022 The wind shall eat up all thy pastors, and thy lovers shall go into captivity: surely then shalt thou be ashamed and confounded for all thy wickedness. %%% Embuyaga ze ziririisa abasumba bo bonna; ne baganzi bo balitwalibwa okusibibwa: kale tolirema kukwatibwa nsonyi n'oswala olw'obubi bwo bwonna. 24JER022.023 O inhabitant of Lebanon, that makest thy nest in the cedars, how gracious shalt thou be when pangs come upon thee, the pain as of a woman in travail! %%% Ai ggwe abeera ku Lebanooni, akola ekisu kyo ku mivule, ng'oliba wa kusaasirwa nnyo, obulumi bwe bulikukwata, obubalagaze ng'obw'omukazi alumwa okuzaala! 24JER022.024 As I live, saith the LORD, though Coniah the son of Jehoiakim king of Judah were the signet upon my right hand, yet would I pluck thee thence; %%% Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, Koniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda newakubadde nga ye mpeta ey'akabonero ku mukono gwo ogwa ddyo, era nandikukwakuddeyo; 24JER022.025 And I will give thee into the hand of them that seek thy life, and into the hand of them whose face thou fearest, even into the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon, and into the hand of the Chaldeans. %%% era ndikugabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwo ne mu mukono gw'abo b'otya, mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni, ne mu mukono gw'Abakaludaaya. 24JER022.026 And I will cast thee out, and thy mother that bare thee, into another country, where ye were not born; and there shall ye die. %%% Era ndikugobera, ggwe ne nnyoko akuzaala, mu nsi endala gye mutaazaalirwa; era mulifiira eyo. 24JER022.027 But to the land whereunto they desire to return, thither shall they not return. %%% Naye mu nsi emmeeme yaabwe gye yeegomba okudda, eyo gye batalidda. 24JER022.028 Is this man Coniah a despised broken idol? is he a vessel wherein is no pleasure? wherefore are they cast out, he and his seed, and are cast into a land which they know not? %%% Omusajja ono Koniya lugyo lwatifu olunyoomebwa? ono kibya omutali kusanyusa? bagoberwa ki ye n'ezzadde lye, ne bagoberwa mu nsi gye batamanyi? 24JER022.029 O earth, earth, earth, hear the word of the LORD. %%% Ai ensi, ensi, ensi, wulira ekigambo kya Mukama. 24JER022.030 Thus saith the LORD, Write ye this man childless, a man that shall not prosper in his days: for no man of his seed shall prosper, sitting upon the throne of David, and ruling any more in Judah. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Muwandiike omusajja ono obutaba na baana, omusajja ataliraba mukisa mu biro bye: kubanga tewaliba muntu wa ku zzadde lye aliraba omukisa ng'atudde ku ntebe ya Dawudi, oba nga yeeongera nate okufuga mu Yuda. 24JER023.001 Woe be unto the pastors that destroy and scatter the sheep of my pasture! saith the LORD. %%% Zisanze abasumba abazikiriza abasaasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange! bw'ayogera Mukama. 24JER023.002 Therefore thus saith the LORD God of Israel against the pastors that feed my people; Ye have scattered my flock, and driven them away, and have not visited them: behold, I will visit upon you the evil of your doings, saith the LORD. %%% Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera bw'ati eri abasumba abaliisa abantu bange nti Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama. 24JER023.003 And I will gather the remnant of my flock out of all countries whither I have driven them, and will bring them again to their folds; and they shall be fruitful and increase. %%% Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala balyeyongera. 24JER023.004 And I will set up shepherds over them which shall feed them: and they shall fear no more, nor be dismayed, neither shall they be lacking, saith the LORD. %%% Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa: kale nga tebakyatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba balibula, bw'ayogera Mukama. 24JER023.005 Behold, the days come, saith the LORD, that I will raise unto David a righteous Branch, and a King shall reign and prosper, and shall execute judgment and justice in the earth. %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndirosa eri Dawudi Ettabi ettuukirivu, era alifuga nga ye kabaka, era alikola eby'amagezi, era alituukiriza emisango n'eby'ensonga mu nsi. 24JER023.006 In his days Judah shall be saved, and Israel shall dwell safely: and this is his name whereby he shall be called, THE LORD OUR RIGHTEOUSNESS. %%% Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mirembe: era lino lye linnya ye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe. 24JER023.007 Therefore, behold, the days come, saith the LORD, that they shall no more say, The LORD liveth, which brought up the children of Israel out of the land of Egypt; %%% Laba, nnaku kyeziva zijja, bw'ayogera Mukama, lwe batakyayogera nate nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri; 24JER023.008 But, The LORD liveth, which brought up and which led the seed of the house of Israel out of the north country, and from all countries whither I had driven them; and they shall dwell in their own land. %%% naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu nsi zonna gye nnabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo. 24JER023.009 Mine heart within me is broken because of the prophets; all my bones shake; I am like a drunken man, and like a man whom wine hath overcome, because of the LORD, and because of the words of his holiness. %%% Ebya bannabbi. Omutima gwange munda yange gumenyese, amagumba gange gonna gakankana; nninga omutamiivu, era ng'omuntu awanguddwa omwenge; ku lwa Mukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu. 24JER023.010 For the land is full of adulterers; for because of swearing the land mourneth; the pleasant places of the wilderness are dried up, and their course is evil, and their force is not right. %%% Kubanga ensi ejjudde abenzi; kubanga ensi ekungubaga olw'okulayira; amalundiro ag'omu ddungu gakaze; n'amagenda gaabwe mabi, n'amaanyi gaabwe si malungi. 24JER023.011 For both prophet and priest are profane; yea, in my house have I found their wickedness, saith the LORD. %%% Kubanga nnabbi era ne kabona boonoonefu; weewaawo, nu nnyumba yange mwe nnalabira obubi bwabwe, bw'ayogera Mukama. 24JER023.012 Wherefore their way shall be unto them as slippery ways in the darkness: they shall be driven on, and fall therein: for I will bring evil upon them, even the year of their visitation, saith the LORD. %%% Amakubo gaabwe kyegaliva gabeera gye bali ng'obuseerezi mu kizikiza: balisindikibwa ne bagwa omwo: kubanga ndibaleetako obubi, gwe mwaka mwe balibonerezebwa, bw'ayogera Mukama. 24JER023.013 And I have seen folly in the prophets of Samaria; they prophesied in Baal, and caused my people Israel to err. %%% Era ndabye obusirusiru ku bannabbi ab'e Samaliya; balagula ku lwa Baali ne bakyamya abantu bange Isiraeri. 24JER023.014 I have seen also in the prophets of Jerusalem an horrible thing: they commit adultery, and walk in lies: they strengthen also the hands of evildoers, that none doth return from his wickedness: they are all of them unto me as Sodom, and the inhabitants thereof as Gomorrah. %%% Era ndabye ekigambo eky'ekivve ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne banyweza emikono gy'abo abakola obubi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe: bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga Ggomola. 24JER023.015 Therefore thus saith the LORD of hosts concerning the prophets; Behold, I will feed them with wormwood, and make them drink the water of gall: for from the prophets of Jerusalem is profaneness gone forth into all the land. %%% Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi nti Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa: kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna. 24JER023.016 Thus saith the LORD of hosts, Hearken not unto the words of the prophets that prophesy unto you: they make you vain: they speak a vision of their own heart, and not out of the mouth of the LORD. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi ababalagula; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa: boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so okutavudde mu kamwa ka Mukama. 24JER023.017 They say still unto them that despise me, The LORD hath said, Ye shall have peace; and they say unto every one that walketh after the imagination of his own heart, No evil shall come upon you. %%% Bagamba olutata abo abannyooma nti Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; na buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe ye bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira. 24JER023.018 For who hath stood in the counsel of the LORD, and hath perceived and heard his word? who hath marked his word, and heard it? %%% Kubanga ani eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere awulire ekigambo kye? ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira? 24JER023.019 Behold, a whirlwind of the LORD is gone forth in fury, even a grievous whirlwind: it shall fall grievously upon the head of the wicked. %%% Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, weewaawo, kibuyaga w'akazimu: aligwa ku mutwe gw'ababi. 24JER023.020 The anger of the LORD shall not return, until he have executed, and till he have performed the thoughts of his heart: in the latter days ye shall consider it perfectly. %%% Obusungu bwa Mukama tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza, okutuusa lw'alikomekkereza omutima gwe bye gumaliridde: mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala. 24JER023.021 I have not sent these prophets, yet they ran: I have not spoken to them, yet they prophesied. %%% Saatuma bannabbi abo, naye ne baddukana mbiro: saayogera nabo, naye ne balagula. 24JER023.022 But if they had stood in my counsel, and had caused my people to hear my words, then they should have turned them from their evil way, and from the evil of their doings. %%% Naye singa bayimirira mu kuteesa kwange, kale bandiwulizza abantu bange ebigambo byange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi n'obubi obw'ebikolwa byabwe. 24JER023.023 Am I a God at hand, saith the LORD, and not a God afar off? %%% Nze ndi Katonda ali okumpi, bw'ayogera Mukama, so siri Katonda ali ewala? 24JER023.024 Can any hide himself in secret places that I shall not see him? saith the LORD. Do not I fill heaven and earth? saith the LORD. %%% Waliwo ayinza okwekweka mu bifo eby'ekyama ne simulaba? bw'ayogera Mukama. Sijjula ggulu n'ensi? bw'ayogera Mukama. 24JER023.025 I have heard what the prophets said, that prophesy lies in my name, saying, I have dreamed, I have dreamed. %%% Mpulidde bannabbi bye boogedde abayima mu linnya lyange okulagula eby'obulimba, nga boogera nti Ndoose, ndoose. 24JER023.026 How long shall this be in the heart of the prophets that prophesy lies? yea, they are prophets of the deceit of their own heart; %%% Ebyo birituusa wa okuba mu mutima gwa bannabbi abalagula eby'obulimba; bannabbi ab'obukyamu obw'omu mutima gwabwe bo? 24JER023.027 Which think to cause my people to forget my name by their dreams which they tell every man to his neighbour, as their fathers have forgotten my name for Baal. %%% Abalowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe bye babuulirana buli muntu munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali. 24JER023.028 The prophet that hath a dream, let him tell a dream; and he that hath my word, let him speak my word faithfully. What is the chaff to the wheat? saith the LORD. %%% Nnabbi aloota ekirooto abuulirenga ekirooto, n'oyo alina ekigambo kyange ayogerenga ekigambo kyange n'obwesigwa. Ebisusunku kiki okwenkana n'eŋŋaano? bw'ayogera Mukama. 24JER023.029 Is not my word like as a fire? saith the LORD; and like a hammer that breaketh the rock in pieces? %%% Ekigambo kyange tekifaanana muliro? bw'ayogera Mukama; era tekifaanana nnyondo eyasaayasa olwazi? 24JER023.030 Therefore, behold, I am against the prophets, saith the LORD, that steal my words every one from his neighbour. %%% Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne. 24JER023.031 Behold, I am against the prophets, saith the LORD, that use their tongues, and say, He saith. %%% Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti Ayogera. 24JER023.032 Behold, I am against them that prophesy false dreams, saith the LORD, and do tell them, and cause my people to err by their lies, and by their lightness; yet I sent them not, nor commanded them: therefore they shall not profit this people at all, saith the LORD. %%% Laba, ndi mulabe w'abo abalagula ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu: naye saabatuma so saabalagira; so tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama. 24JER023.033 And when this people, or the prophet, or a priest, shall ask thee, saying, What is the burden of the LORD? thou shalt then say unto them, What burden? I will even forsake you, saith the LORD. %%% Awo abantu bano oba nnabbi bwe balikubuuza nga boogera nti Omugugu gwa Mukama kye ki? kale n'obagamba nti Mugugu ki! Ndibagoba, bw'ayogera Mukama. 24JER023.034 And as for the prophet, and the priest, and the people, that shall say, The burden of the LORD, I will even punish that man and his house. %%% Ne nnabbi ne kabona n'abantu abalyogera nti Omugugu gwa Mukama, ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye. 24JER023.035 Thus shall ye say every one to his neighbour, and every one to his brother, What hath the LORD answered? and, What hath the LORD spoken? %%% Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne na buli muntu muganda we nti Mukama azzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki? 24JER023.036 And the burden of the LORD shall ye mention no more: for every man's word shall be his burden; for ye have perverted the words of the living God, of the LORD of hosts our God. %%% N'omugugu gwa Mukama temukyagwatula nate: kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwanyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye Katonda waffe. 24JER023.037 Thus shalt thou say to the prophet, What hath the LORD answered thee? and, What hath the LORD spoken? %%% Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti Mukama akuzzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki? 24JER023.038 But since ye say, The burden of the LORD; therefore thus saith the LORD; Because ye say this word, The burden of the LORD, and I have sent unto you, saying, Ye shall not say, The burden of the LORD; %%% Naye bwe mulyogera nti Omugugu gwa Mukama; Mukama kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, nti Omugugu gwa Mukama, nange mbatumidde nga njogera nti Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama; 24JER023.039 Therefore, behold, I, even I, will utterly forget you, and I will forsake you, and the city that I gave you and your fathers, and cast you out of my presence: %%% kale, laba, ndibeerabirira ddala, era ndibasuula n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe okuviira ddala we ndi: 24JER023.040 And I will bring an everlasting reproach upon you, and a perpetual shame, which shall not be forgotten. %%% era ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo n'ensonyi ezitalivaawo ezitalyerabirwa. 24JER024.001 The LORD shewed me, and, behold, two baskets of figs were set before the temple of the LORD, after that Nebuchadrezzar king of Babylon had carried away captive Jeconiah the son of Jehoiakim king of Judah, and the princes of Judah, with the carpenters and smiths, from Jerusalem, and had brought them to Babylon. %%% Mukama yanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini ebiteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama; Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni ng'amaze okutwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi okubaggya mu Yerusaalemi, era ng'abatutte e Babulooni. 24JER024.002 One basket had very good figs, even like the figs that are first ripe: and the other basket had very naughty figs, which could not be eaten, they were so bad. %%% Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nnungi nnyo, ng'ettiini ezisooka okwengera: n'ekibbo eky'okubiri kyalimu ettiini mbi nnyo ezitaliika, kubanga zaayinga obubi. 24JER024.003 Then said the LORD unto me, What seest thou, Jeremiah? And I said, Figs; the good figs, very good; and the evil, very evil, that cannot be eaten, they are so evil. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olaba ki, Yeremiya? Ne njogera nti Ttiini; ettiini ennungi nnungi nnyo; n'embi mbi nnyo ezitaliika, kubanga ziyinga obubi. 24JER024.004 Again the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 24JER024.005 Thus saith the LORD, the God of Israel; Like these good figs, so will I acknowledge them that are carried away captive of Judah, whom I have sent out of this place into the land of the Chaldeans for their good. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Ng'ettiini zino ennungi, bwe ntyo bwe ndirowooza abasibe ba Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya, olw'obulungi. 24JER024.006 For I will set mine eyes upon them for good, and I will bring them again to this land: and I will build them, and not pull them down; and I will plant them, and not pluck them up. %%% Kubanga nditeeka amaaso gange ku bo olw'obulungi, era ndibakomyawo nate mu nsi eno: era ndibazimba so siribaabya; era ndibasimba so siribasimbula. 24JER024.007 And I will give them an heart to know me, that I am the LORD: and they shall be my people, and I will be their God: for they shall return unto me with their whole heart. %%% Era ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe: kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna. 24JER024.008 And as the evil figs, which cannot be eaten, they are so evil; surely thus saith the LORD, So will I give Zedekiah the king of Judah, and his princes, and the residue of Jerusalem, that remain in this land, and them that dwell in the land of Egypt: %%% Era ng'ettiini embi ezitaliika, kubanga ziyinga obubi; mazima bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri: 24JER024.009 And I will deliver them to be removed into all the kingdoms of the earth for their hurt, to be a reproach and a proverb, a taunt and a curse, in all places whither I shall drive them. %%% ndibagabula okuyuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka bwe zenkana olw'obubi; okuba ekivume n'olugero n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera. 24JER024.010 And I will send the sword, the famine, and the pestilence, among them, till they be consumed from off the land that I gave unto them and to their fathers. %%% Era ndiweereza ekitala n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnawa bo ne bajjajjaabwe. 24JER025.001 The word that came to Jeremiah concerning all the people of Judah in the fourth year of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah, that was the first year of Nebuchadrezzar king of Babylon; %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya eky'abantu bonna aba Yuda mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda; ogwo gwe gwali omwaka ogw'olubereberye ogwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni; 24JER025.002 The which Jeremiah the prophet spake unto all the people of Judah, and to all the inhabitants of Jerusalem, saying, %%% Yeremiya nnabbi kye yabuulira abantu bonna aba Yuda ne bonna abaali mu Yerusaalemi, ng'ayogera nti 24JER025.003 From the thirteenth year of Josiah the son of Amon king of Judah, even unto this day, that is the three and twentieth year, the word of the LORD hath come unto me, and I have spoken unto you, rising early and speaking; but ye have not hearkened. %%% Okuva ku mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda ne leero, emyaka egyo amakumi abiri mu esatu, ekigambo kya Mukama kyanjijiranga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temuwulirizanga. 24JER025.004 And the LORD hath sent unto you all his servants the prophets, rising early and sending them; but ye have not hearkened, nor inclined your ear to hear. %%% Era Mukama yabatumiranga abaddu be bonna bannabbi, ng'agolokoka mu makya ng'abatuma; naye mmwe temuwulirizanga so temuteganga kutu kwammwe okuwulira; 24JER025.005 They said, Turn ye again now every one from his evil way, and from the evil of your doings, and dwell in the land that the LORD hath given unto you and to your fathers for ever and ever: %%% ng'ayogera nti Mukomewo nno buli muntu ng'aleka ekkabo lye ebbi n'obubi obw'ebikolwa byammwe, mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuva edda n'okutuusa emirembe gyonna: 24JER025.006 And go not after other gods to serve them, and to worship them, and provoke me not to anger with the works of your hands; and I will do you no hurt. %%% so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, so temunsunguwazanga n'omulimu ogw'emikono gyammwe; nange siribakola bubi. 24JER025.007 Yet ye have not hearkened unto me, saith the LORD; that ye might provoke me to anger with the works of your hands to your own hurt. %%% Era naye temumpuliranga, bw'ayogera Mukama; munsunguwaze n'omulimu ogw'emikono gyammwe olw'okwerumya mwekka. 24JER025.008 Therefore thus saith the LORD of hosts; Because ye have not heard my words, %%% Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Kubanga temuwulidde bigambo byange, 24JER025.009 Behold, I will send and take all the families of the north, saith the LORD, and Nebuchadrezzar the king of Babylon, my servant, and will bring them against this land, and against the inhabitants thereof, and against all these nations round about, and will utterly destroy them, and make them an astonishment, and an hissing, and perpetual desolations. %%% laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n'abo abali omwo n'amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'amatongo ag'olubeerera. 24JER025.010 Moreover I will take from them the voice of mirth, and the voice of gladness, the voice of the bridegroom, and the voice of the bride, the sound of the millstones, and the light of the candle. %%% Era nate ndibaggyako eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, okuvuga kw'olubengo n'okwaka kw'ettabaaza. 24JER025.011 And this whole land shall be a desolation, and an astonishment; and these nations shall serve the king of Babylon seventy years. %%% N'ensi eno yonna eriba matongo n'ekyewuunyo; n'amawanga gano galiweerereza kabaka w'e Sabulooni emyaka nsanvu. 24JER025.012 And it shall come to pass, when seventy years are accomplished, that I will punish the king of Babylon, and that nation, saith the LORD, for their iniquity, and the land of the Chaldeans, and will make it perpetual desolations. %%% Awo olulituuka emyaka ensanvu bwe girituukirira, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babulooni n'eggwanga eryo, bw'ayogera Mukama, olw'obutali butuukirivu bwabwe, n'ensi ey'Abakaludaaya, era ndigifuula amatongo ennaku zonna. 24JER025.013 And I will bring upon that land all my words which I have pronounced against it, even all that is written in this book, which Jeremiah hath prophesied against all the nations. %%% Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye tunagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya kye yalagula eri amawanga gonna. 24JER025.014 For many nations and great kings shall serve themselves of them also: and I will recompense them according to their deeds, and according to the works of their own hands. %%% Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, abo be balifuula abaddu: era ndibasasula ng'ebikolwa byabwe bwe biri era ng'omulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli. 24JER025.015 For thus saith the LORD God of Israel unto me; Take the wine cup of this fury at my hand, and cause all the nations, to whom I send thee, to drink it. %%% Kubanga bw'ati Mukama Katonda wa Isiraeri bw'aŋŋamba nti Toola ekikompe eky'omwenge ogw'ekiruyi kino mu mukono gwange, oginyweseeko amawanga gonna gye nkutuma. 24JER025.016 And they shall drink, and be moved, and be mad, because of the sword that I will send among them. %%% Kale balinywa ne batagatta ne balaluka olw'ekitala kye ndiweereza mu bo. 24JER025.017 Then took I the cup at the LORD's hand, and made all the nations to drink, unto whom the LORD had sent me: %%% Awo ne ntoola ekikompe mu mukono gwa Mukama, ne nnywesa amawanga gonna Mukama gye yantuma: 24JER025.018 To wit, Jerusalem, and the cities of Judah, and the kings thereof, and the princes thereof, to make them a desolation, an astonishment, an hissing, and a curse; as it is this day; %%% Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda ne bakabaka baamu n'abakungu baamu, okubafuula amatongo n'ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'ekikolimo; nga bwe kiri leero; 24JER025.019 Pharaoh king of Egypt, and his servants, and his princes, and all his people; %%% Falaawo kabaka w'e Misiri n'abaddu be n'abakungu be n'abantu be bonna; 24JER025.020 And all the mingled people, and all the kings of the land of Uz, and all the kings of the land of the Philistines, and Ashkelon, and Azzah, and Ekron, and the remnant of Ashdod, %%% n'abantu bonna abatabulwa, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ya Uzi, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ey'Abafirisuuti, ne Asukulooni ne Gaaza ne Ekuloni n'abafisseewo ku Asudodi; 24JER025.021 Edom, and Moab, and the children of Ammon, %%% Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni; 24JER025.022 And all the kings of Tyrus, and all the kings of Zidon, and the kings of the isles which are beyond the sea, %%% ne bakabaka bonna ab'e Ttuulo ne bakabaka bonna ab'e Sidoni ne bakabaka b'ekizinga ekiri emitala w'ennyanja; 24JER025.023 Dedan, and Tema, and Buz, and all that are in the utmost corners, %%% Dedani ne Tema ne Buzi ne bonna abamwa oluge; 24JER025.024 And all the kings of Arabia, and all the kings of the mingled people that dwell in the desert, %%% ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu ne bakabaka bonna ab'abantu abatabulwa ababeera mu ddungu; 24JER025.025 And all the kings of Zimri, and all the kings of Elam, and all the kings of the Medes, %%% ne bakabaka bonna ab'e Zimuli, ne bakabaka bonna aba Eramu, ne bakabaka bonna aba Abameedi; 24JER025.026 And all the kings of the north, far and near, one with another, and all the kingdoms of the world, which are upon the face of the earth: and the king of Sheshach shall drink after them. %%% ne bakabaka bonna ab'obukiika obwa kkono ab'ewala n'ab'okumpi, buli muntu ne munne; n'ensi zonna eza bakabaka bwe benkana eziri ku nsi; ne kabaka w'e Sesaki alibaddirira okunywa. 24JER025.027 Therefore thou shalt say unto them, Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Drink ye, and be drunken, and spue, and fall, and rise no more, because of the sword which I will send among you. %%% Era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Munywe mutamiire museseme mugwe so temuyimuka nate olw'ekitala kye ndiweereza mu mmwe. 24JER025.028 And it shall be, if they refuse to take the cup at thine hand to drink, then shalt thou say unto them, Thus saith the LORD of hosts; Ye shall certainly drink. %%% Awo olulituuka bwe baligaana okutoola ekikompe mu mukono gwo, okunywa, kale olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Temuuleme kunywa. 24JER025.029 For, lo, I begin to bring evil on the city which is called by my name, and should ye be utterly unpunished? Ye shall not be unpunished: for I will call for a sword upon all the inhabitants of the earth, saith the LORD of hosts. %%% Kubanga, laba, nsookera ku kibuga ekituumiddwako erinnya lyange okuleeta obubi, nammwe mwandiwonedde ddala okubonerezebwa? Temuliwona kubonerezebwa: kubanga ndiyita ekitala okujja ku abo bonna abatuula ku nsi, bw'ayogera Mukama w'eggye. 24JER025.030 Therefore prophesy thou against them all these words, and say unto them, The LORD shall roar from on high, and utter his voice from his holy habitation; he shall mightily roar upon his habitation; he shall give a shout, as they that tread the grapes, against all the inhabitants of the earth. %%% Kale olagulanga ku bo ebigambo ebyo byonna, obagambe nti Mukama aliwuluguma ng'ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye ng'ayima mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera; aliwulugumira n'amaanyi ku kisibo kye; era alyogerera waggulu ng'abo abasamba ezabbibu eri abo bonna abatuula ku nsi. 24JER025.031 A noise shall come even to the ends of the earth; for the LORD hath a controversy with the nations, he will plead with all flesh; he will give them that are wicked to the sword, saith the LORD. %%% Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina empaka n'amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama: 24JER025.032 Thus saith the LORD of hosts, Behold, evil shall go forth from nation to nation, and a great whirlwind shall be raised up from the coasts of the earth. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, obubi bulifuluma okuva mu ggwanga okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa aliva ku njegoyego z'ensi ez'enkomerero. 24JER025.033 And the slain of the LORD shall be at that day from one end of the earth even unto the other end of the earth: they shall not be lamented, neither gathered, nor buried; they shall be dung upon the ground. %%% N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo: tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi. 24JER025.034 Howl, ye shepherds, and cry; and wallow yourselves in the ashes, ye principal of the flock: for the days of your slaughter and of your dispersions are accomplished; and ye shall fall like a pleasant vessel. %%% Muwowoggane, mmwe abasumba, mukaabe; mwekulukuunye mu vvu, mmwe abakulu ab'omu kisibo: kubanga ennaku ez'okuttibwa kwammwe zituukidde ddala, nange ndibamenyaamenya, nammwe muligwa ng'ekibya ekisanyusa. 24JER025.035 And the shepherds shall have no way to flee, nor the principal of the flock to escape. %%% N'abasumba tebaliba na kkubo lya kuddukiramu, newakubadde abakulu ab'omu kisibo ery'okuwoneramu: 24JER025.036 A voice of the cry of the shepherds, and an howling of the principal of the flock, shall be heard: for the LORD hath spoiled their pasture. %%% Eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'abasumba n'okuwowoggana kw'abakulu ab'omu kisibo kubanga Mukama azisa eddundiro lyabwe. 24JER025.037 And the peaceable habitations are cut down because of the fierce anger of the LORD. %%% N'ebisibo ebyabangamu emirembe bisirisibwa olw'ekiruyi kya Mukama. 24JER025.038 He hath forsaken his covert, as the lion: for their land is desolate because of the fierceness of the oppressor, and because of his fierce anger. %%% Avudde mu bwekwekero ng'empologoma: kubanga ensi yaabwe efuuse ekyewuunyo olw'obukambwe bw'ekitala ekijooga n'olw'ekiruyi kye. 24JER026.001 In the beginning of the reign of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah came this word from the LORD, saying, %%% Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje alye obwakabaka ekigambo kino ne kijja okuva eri Mukama nga kyogera nti 24JER026.002 Thus saith the LORD; Stand in the court of the LORD's house, and speak unto all the cities of Judah, which come to worship in the LORD's house, all the words that I command thee to speak unto them; diminish not a word: %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Yimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, ogambe ebibuga byonna ebya Yuda, abajja okusinziza mu nnyumba ya Mukama, ebigambo byonna bye nkulagira okubagamba; tolekaayo na kimu. 24JER026.003 If so be they will hearken, and turn every man from his evil way, that I may repent me of the evil, which I purpose to do unto them because of the evil of their doings. %%% Mpozzi baliwulira ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nejjuse obubi bwe nteesa okubakola olw'obubi obw'ebikolwa byabwe. 24JER026.004 And thou shalt say unto them, Thus saith the LORD; If ye will not hearken to me, to walk in my law, which I have set before you, %%% Era obagambanga nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutampulirize okutambuliranga mu mateeka gange ge ntadde mu maaso gammwe, 24JER026.005 To hearken to the words of my servants the prophets, whom I sent unto you, both rising up early, and sending them, but ye have not hearkened; %%% okuwulirizanga ebigambo by'abaddu bange bannabbi be mbatumira, okugolokoka nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, naye mmwe ne mutawuliriza; 24JER026.006 Then will I make this house like Shiloh, and will make this city a curse to all the nations of the earth. %%% kale ndifuula ennyumba eno okuba nga Siiro, era ndifuula ekibuga kino ekikolimo eri amawanga gonna ag'omu nsi. 24JER026.007 So the priests and the prophets and all the people heard Jeremiah speaking these words in the house of the LORD. %%% Awo bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng'ayogerera ebigambo ebyo mu nnyumba ya Mukama. 24JER026.008 Now it came to pass, when Jeremiah had made an end of speaking all that the LORD had commanded him to speak unto all the people, that the priests and the prophets and all the people took him, saying, Thou shalt surely die. %%% Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera byonna Mukama bye yali amulagidde okugamba abantu bonna, bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bamukwata nga boogera nti Tooleme kufa. 24JER026.009 Why hast thou prophesied in the name of the LORD, saying, This house shall be like Shiloh, and this city shall be desolate without an inhabitant? And all the people were gathered against Jeremiah in the house of the LORD. %%% Kiki ekikulaguzizza mu linnya lya Mukama ng'oyogera nti Ennyumba eno eriba nga Siiro n'ekibuga kino kiriba matongo nga tewali muntu akibeeramu? Abantu bonna ne bakuŋŋaanira awali Yeremiya mu nnyumba ya Mukama. 24JER026.010 When the princes of Judah heard these things, then they came up from the king's house unto the house of the LORD, and sat down in the entry of the new gate of the LORD's house. %%% Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebyo, ne bambuka nga bava mu nnyumba ya kabaka, ne bajja mu nnyumba ya Mukama; ne batuula awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama. 24JER026.011 Then spake the priests and the prophets unto the princes and to all the people, saying, This man is worthy to die; for he hath prophesied against this city, as ye have heard with your ears. %%% Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti Omusajja ono asaanidde okufa; kubanga alagudde ku kibuga kino nga bwe muwulidde n'amatu gammwe mmwe. 24JER026.012 Then spake Jeremiah unto all the princes and to all the people, saying, The LORD sent me to prophesy against this house and against this city all the words that ye have heard. %%% Awo Yeremiya n'agamba abakungu bonna n'abantu bonna nti Mukama ye yantuma okulagula ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebigambo byonna bye muwulidde. 24JER026.013 Therefore now amend your ways and your doings, and obey the voice of the LORD your God; and the LORD will repent him of the evil that he hath pronounced against you. %%% Kale nno mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, mugondere eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe; kale Mukama alyejjusa obubi bw'aboogeddeko. 24JER026.014 As for me, behold, I am in your hand: do with me as seemeth good and meet unto you. %%% Naye nze, laba, ndi mu mukono gwammwe: munkole nga bwe musiima era bwe kiri eky'ensonga mu maaso gammwe. 24JER026.015 But know ye for certain, that if ye put me to death, ye shall surely bring innocent blood upon yourselves, and upon this city, and upon the inhabitants thereof: for of a truth the LORD hath sent me unto you to speak all these words in your ears. %%% Kyokka mutegeerere ddala bwe munanzita muneereetako omusaayi ogutaliiko musango ne ku kibuga kino ne ku abo abakibeeramu: kubanga mazima Mukama ye antumye gye muli okwogera ebigambo bino byonna mu matu gammwe. 24JER026.016 Then said the princes and all the people unto the priests and to the prophets; This man is not worthy to die: for he hath spoken to us in the name of the LORD our God. %%% Awo abakungu n'abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti Omusajja ono tasaanidde kufa; kubanga ayogeredde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe. 24JER026.017 Then rose up certain of the elders of the land, and spake to all the assembly of the people, saying, %%% Awo ne wagolokoka abamu ku bakadde b'ensi ne bagamba ekibiina kyonna eky'abantu nti 24JER026.018 Micah the Morasthite prophesied in the days of Hezekiah king of Judah, and spake to all the people of Judah, saying, Thus saith the LORD of hosts; Zion shall be plowed like a field, and Jerusalem shall become heaps, and the mountain of the house as the high places of a forest. %%% Mikaaya Omumolasi yalagulira mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda; n'agamba abantu bonna aba Yuda ng'ayogera ati Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Sayuuni lulikabalwa ng'ennimiro ne Yerusaalemi kirifuuka bifunvu, n'olusozi olw'ennyumba luliba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira. 24JER026.019 Did Hezekiah king of Judah and all Judah put him at all to death? did he not fear the LORD, and besought the LORD, and the LORD repented him of the evil which he had pronounced against them? Thus might we procure great evil against our souls. %%% Keezeekiya kabaka wa Yuda ne Yuda yenna baamala ne bamutta? teyatya Mukama, ne yeegayirira ekisa kya Mukama, Mukama ne yejjusa obubi bwe yali aboogeddeko? Bwe tutyo twandyonoonye nnyo emmeeme zaffe ffe. 24JER026.020 And there was also a man that prophesied in the name of the LORD, Urijah the son of Shemaiah of Kirjathjearim, who prophesied against this city and against this land according to all the words of Jeremiah: %%% Era waaliwo omusajja eyalagulira mu linnya lya Mukama, Uliya mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyasuyalimu; n'oyo yalagula ku kibuga kino ne ku nsi eno ng'ebigambo byonna ebya Yeremiya bwe bibadde: 24JER026.021 And when Jehoiakim the king, with all his mighty men, and all the princes, heard his words, the king sought to put him to death: but when Urijah heard it, he was afraid, and fled, and went into Egypt; %%% awo Yekoyakimu kabaka n'abasajja be bonna ab'amaanyi n'abakungu bonna bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n'ayagala okumutta; naye Uliya bwe yakiwulira, n'atya n'adduka n'agenda mu Misiri: 24JER026.022 And Jehoiakim the king sent men into Egypt, namely, Elnathan the son of Achbor, and certain men with him into Egypt. %%% Yekoyakimu kabaka n'atuma abantu e Misiri, Erunasani mutabani wa Akubooli, n'abasajja abamu wamu naye e Misiri: 24JER026.023 And they fetched forth Urijah out of Egypt, and brought him unto Jehoiakim the king; who slew him with the sword, and cast his dead body into the graves of the common people. %%% ne bakimayo Uliya mu Misiri, ne bamuleeta eri Yekoyakimu kabaka; n'amutta n'ekitala, n'asuula omulambo gwe mu malaalo g'abakopi. 24JER026.024 Nevertheless the hand of Ahikam the son of Shaphan was with Jeremiah, that they should not give him into the hand of the people to put him to death. %%% Naye omukono gwa Akikamu mutabani wa Safani ne guba wamu ne Yeremiya baleme okumuwaayo mu mukono gw'abantu okumutta. 24JER027.001 In the beginning of the reign of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah came this word unto Jeremiah from the LORD, saying, %%% Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti 24JER027.002 Thus saith the LORD to me; Make thee bonds and yokes, and put them upon thy neck, %%% Bw'ati Mukama bw'aŋŋamba nti Weekolere ebisiba n'emiti egy'ekikoligo obiteeke mu bulago bwo; 24JER027.003 And send them to the king of Edom, and to the king of Moab, and to the king of the Ammonites, and to the king of Tyrus, and to the king of Zidon, by the hand of the messengers which come to Jerusalem unto Zedekiah king of Judah; %%% obiweereze kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni mu mukono gw'ababaka abajja e Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda; 24JER027.004 And command them to say unto their masters, Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Thus shall ye say unto your masters; %%% obalagire ebigambo eby'okutwalira bakama baabwe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isireari nti Bwe muti bwe muligamba bakama bammwe nti 24JER027.005 I have made the earth, the man and the beast that are upon the ground, by my great power and by my outstretched arm, and have given it unto whom it seemed meet unto me. %%% Nze nakola ensi, omuntu n'ensolo ebiri ku nsi, n'obuyinza bwange obungi n'omukono gwange ogugoloddwa; era nze ngiwa gwe nsiima. 24JER027.006 And now have I given all these lands into the hand of Nebuchadnezzar the king of Babylon, my servant; and the beasts of the field have I given him also to serve him. %%% Era kaakano mpadde ensi zino zonna mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweerezanga. 24JER027.007 And all nations shall serve him, and his son, and his son's son, until the very time of his land come: and then many nations and great kings shall serve themselves of him. %%% N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we okutuusa ebiro eby'ensi ye lwe birituuka: kale amawanga mangi ne bakabaka abakulu ne balyoka bamufuula omuddu. 24JER027.008 And it shall come to pass, that the nation and kingdom which will not serve the same Nebuchadnezzar the king of Babylon, and that will not put their neck under the yoke of the king of Babylon, that nation will I punish, saith the LORD, with the sword, and with the famine, and with the pestilence, until I have consumed them by his hand. %%% Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe. 24JER027.009 Therefore hearken not ye to your prophets, nor to your diviners, nor to your dreamers, nor to your enchanters, nor to your sorcerers, which speak unto you, saying, Ye shall not serve the king of Babylon: %%% Naye mmwe temuwuliranga bannabbi bammwe newakubadde abafumu bammwe newakubadde ebirooto byammwe newakubadde abalogo bammwe newakubadde abasamize bammwe ababagamba nti Temuliweereza kabaka w'e Babulooni: 24JER027.010 For they prophesy a lie unto you, to remove you far from your land; and that I should drive you out, and ye should perish. %%% kubanga babalagula kya bulimba okubatwala ewala n'ensi yammwe; era ndyoke mbagobemu ne muzikirira. 24JER027.011 But the nations that bring their neck under the yoke of the king of Babylon, and serve him, those will I let remain still in their own land, saith the LORD; and they shall till it, and dwell therein. %%% Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo. 24JER027.012 I spake also to Zedekiah king of Judah according to all these words, saying, Bring your necks under the yoke of the king of Babylon, and serve him and his people, and live. %%% Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu. 24JER027.013 Why will ye die, thou and thy people, by the sword, by the famine, and by the pestilence, as the LORD hath spoken against the nation that will not serve the king of Babylon? %%% Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde: eby'eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babulooni? 24JER027.014 Therefore hearken not unto the words of the prophets that speak unto you, saying, Ye shall not serve the king of Babylon: for they prophesy a lie unto you. %%% So temuwuliranga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti Temuliweereza kabaka w’e Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba. 24JER027.015 For I have not sent them, saith the LORD, yet they prophesy a lie in my name; that I might drive you out, and that ye might perish, ye, and the prophets that prophesy unto you. %%% Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagulira mu linnya lyange obulimba; ndyoke mbagobe mu ne muzikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula. 24JER027.016 Also I spake to the priests and to all this people, saying, Thus saith the LORD; Hearken not to the words of your prophets that prophesy unto you, saying, Behold, the vessels of the LORD's house shall now shortly be brought again from Babylon: for they prophesy a lie unto you. %%% Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba. 24JER027.017 Hearken not unto them; serve the king of Babylon, and live: wherefore should this city be laid waste? %%% Temubawuliranga; muweereze kabaka w’e Babulooni mubeere abalamu: ekibuga kino kiki ekinaaba kikifuusa amatongo. 24JER027.018 But if they be prophets, and if the word of the LORD be with them, let them now make intercession to the LORD of hosts, that the vessels which are left in the house of the LORD, and in the house of the king of Judah, and at Jerusalem, go not to Babylon. %%% Naye oba nga bannabbi, n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okugenda e Babulooni. 24JER027.019 For thus saith the LORD of hosts concerning the pillars, and concerning the sea, and concerning the bases, and concerning the residue of the vessels that remain in this city, %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mu kama w'eggye eby'empagi n'eby'ennyanja n'eby'entebe n'eby'ebintu ebifisseewo ebisigadde mu kibuga kino, 24JER027.020 Which Nebuchadnezzar king of Babylon took not, when he carried away captive Jeconiah the son of Jehoiakim king of Judah from Jerusalem to Babylon, and all the nobles of Judah and Jerusalem; %%% Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni by'ataatwala bwe yatwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi 24JER027.021 Yea, thus saith the LORD of hosts, the God of Israel, concerning the vessels that remain in the house of the LORD, and in the house of the king of Judah and of Jerusalem; %%% weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, eby'ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti 24JER027.022 They shall be carried to Babylon, and there shall they be until the day that I visit them, saith the LORD; then will I bring them up, and restore them to this place. %%% Biritwalibwa e Babulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira bw'ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbaggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino. 24JER028.001 And it came to pass the same year, in the beginning of the reign of Zedekiah king of Judah, in the fourth year, and in the fifth month, that Hananiah the son of Azur the prophet, which was of Gibeon, spake unto me in the house of the LORD, in the presence of the priests and of all the people, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga mu mwaka ogw'okuna mu mwezi ogw'okutaano Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nti 24JER028.002 Thus speaketh the LORD of hosts, the God of Israel, saying, I have broken the yoke of the king of Babylon. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Mmenye ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni. 24JER028.003 Within two full years will I bring again into this place all the vessels of the LORD's house, that Nebuchadnezzar king of Babylon took away from this place, and carried them to Babylon: %%% Emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako ndireeta nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babulooni: 24JER028.004 And I will bring again to this place Jeconiah the son of Jehoiakim king of Judah, with all the captives of Judah, that went into Babylon, saith the LORD: for I will break the yoke of the king of Babylon. %%% era ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abasibe bonna aba Yuda abaagenda e Babulooni, bw'ayogera Mukama: kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni. 24JER028.005 Then the prophet Jeremiah said unto the prophet Hananiah in the presence of the priests, and in the presence of all the people that stood in the house of the LORD, %%% Awo nnabbi Yeremiya n'agamba nnabbi Kananiya, bakabona nga weebali n'abantu bonna abayimiridde mu nnyumba ya Mukama nga weebali, 24JER028.006 Even the prophet Jeremiah said, Amen: the LORD do so: the LORD perform thy words which thou hast prophesied, to bring again the vessels of the LORD's house, and all that is carried away captive, from Babylon into this place. %%% nnabbi Yeremiya n'ayogera nti Amina: Mukama akole bw'atyo: Mukama atuukirize ebigambo byo by'olagudde okukomyawo ebintu by'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna ab'obusibe okubaggya e Babulooni okubaleeta mu kifo kino. 24JER028.007 Nevertheless hear thou now this word that I speak in thine ears, and in the ears of all the people; %%% Era naye wulira nno ekigambo kino kye njogera mu matu go ne mu matu g'abantu bonna, nti 24JER028.008 The prophets that have been before me and before thee of old prophesied both against many countries, and against great kingdoms, of war, and of evil, and of pestilence. %%% Bannabbi abansooka nze era abaakusooka ggwe edda baalagulanga eri ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka amakulu, nga balagula obulwa n'obubi ne kawumpuli. 24JER028.009 The prophet which prophesieth of peace, when the word of the prophet shall come to pass, then shall the prophet be known, that the LORD hath truly sent him. %%% Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale nnabbi alimanyibwa nga Mukama yamutuma mazima. 24JER028.010 Then Hananiah the prophet took the yoke from off the prophet Jeremiah's neck, and brake it. %%% Awo Kananiya nnabi n'aggya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya n'agumenya. 24JER028.011 And Hananiah spake in the presence of all the people, saying, Thus saith the LORD; Even so will I break the yoke of Nebuchadnezzar king of Babylon from the neck of all nations within the space of two full years. And the prophet Jeremiah went his way. %%% Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako. Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo. 24JER028.012 Then the word of the LORD came unto Jeremiah the prophet, after that Hananiah the prophet had broken the yoke from off the neck of the prophet Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya, Kananiya nnabbi ng'amaze okumenya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya, nga kyogera 24JER028.013 Go and tell Hananiah, saying, Thus saith the LORD; Thou hast broken the yokes of wood; but thou shalt make for them yokes of iron. %%% nti Genda obuulire Kananiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Omenye ekikoligo eky'emiti, naye kola ekikoligo eky'ebyuma okudda mu kifo kyakyo. 24JER028.014 For thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; I have put a yoke of iron upon the neck of all these nations, that they may serve Nebuchadnezzar king of Babylon; and they shall serve him: and I have given him the beasts of the field also. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ntadde ekikoligo eky'ebyuma ku nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni; era balimuweereza: era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko. 24JER028.015 Then said the prophet Jeremiah unto Hananiah the prophet, Hear now, Hananiah; The LORD hath not sent thee; but thou makest this people to trust in a lie. %%% Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba Kananiya nnabi nti Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye weesiza abantu bano eky'obulimba. 24JER028.016 Therefore thus saith the LORD; Behold, I will cast thee from off the face of the earth: this year thou shalt die, because thou hast taught rebellion against the LORD. %%% Mukama kyava ayogera nti Laba, ndikusindika okuva ku nsi: mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama. 24JER028.017 So Hananiah the prophet died the same year in the seventh month. %%% Awo Kananiya nnabbi n'afiira mu mwaka ogwo mu mwezi ogw'omusanvu. 24JER029.001 Now these are the words of the letter that Jeremiah the prophet sent from Jerusalem unto the residue of the elders which were carried away captives, and to the priests, and to the prophets, and to all the people whom Nebuchadnezzar had carried away captive from Jerusalem to Babylon; %%% Era bino bye bigambo eby'omu bbaluwa Yeremiya nnabbi gye yaweereza ng'ayima e Yerusaalemi eri abakadde abafisseewo ab'omu busibe n'eri bakabona n'eri bannabbi n'eri abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte nga basibe okubaggya e Yerusaalemi okubatwala e Babulooni: 24JER029.002 (After that Jeconiah the king, and the queen, and the eunuchs, the princes of Judah and Jerusalem, and the carpenters, and the smiths, were departed from Jerusalem;) %%% (Yekoniya kabaka ne nnamasole n'abalaawe n'abakungu ba Yuda ne Yerusaalemi ne bafundi n'abaweesi nga bamaze okuva mu Yerusaalemi;) 24JER029.003 By the hand of Elasah the son of Shaphan, and Gemariah the son of Hilkiah, (whom Zedekiah king of Judah sent unto Babylon to Nebuchadnezzar king of Babylon) saying, %%% mu mukono gwa Erasa mutabani wa Safani ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, (Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babulooni eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni,) ng'ayogera nti 24JER029.004 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel, unto all that are carried away captives, whom I have caused to be carried away from Jerusalem unto Babylon; %%% Bw'ati Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri bw'agamba ab'obusibe bonna be nnatwaza e Babulooni nga basibe okubaggya e Yerusaalemi, nti 24JER029.005 Build ye houses, and dwell in them; and plant gardens, and eat the fruit of them; %%% Muzimbenga ennyumba mutuulenga omwo; musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu; muwasenga abakazi, muzaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; 24JER029.006 Take ye wives, and beget sons and daughters; and take wives for your sons, and give your daughters to husbands, that they may bear sons and daughters; that ye may be increased there, and not diminished. %%% era muwasizenga batabani bammwe abakazi, era mugabenga abawala bammwe okufumbirwa, bazaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; mwalirenga eyo so temukendeera. 24JER029.007 And seek the peace of the city whither I have caused you to be carried away captives, and pray unto the LORD for it: for in the peace thereof shall ye have peace. %%% Mwagalizenga ekibuga emirembe gye nnabatwaza okuba abasibe, era mukisabirenga eri Mukama: kubanga olw'emirembe gyakyo mmwe muliba n'emirembe. 24JER029.008 For thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Let not your prophets and your diviners, that be in the midst of you, deceive you, neither hearken to your dreams which ye cause to be dreamed. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Bannabbi bammwe abali wakati mu mmwe n'abafumu bammwe balemenga okubalimba, so temuwulirizanga birooto byammwe bye muloosa. 24JER029.009 For they prophesy falsely unto you in my name: I have not sent them, saith the LORD. %%% Kubanga babalagulira mu linnya lyange eby'obulimba: sibatumanga, bw'ayogera Mukama. 24JER029.010 For thus saith the LORD, That after seventy years be accomplished at Babylon I will visit you, and perform my good word toward you, in causing you to return to this place. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Emyaka nsanvu bwe girituukiririra Babulooni, ndibajjira ne ntuukiriza gye muli ekigambo kyange ekirungi nga mbakomyawo mu kifo kino. 24JER029.011 For I know the thoughts that I think toward you, saith the LORD, thoughts of peace, and not of evil, to give you an expected end. %%% Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa okusuubira enkomerero yammwe ey'oluvannyuma. 24JER029.012 Then shall ye call upon me, and ye shall go and pray unto me, and I will hearken unto you. %%% Era mulinkaabira, era muligenda ne munsaba, nange ndibawulira. 24JER029.013 And ye shall seek me, and find me, when ye shall search for me with all your heart. %%% Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna. 24JER029.014 And I will be found of you, saith the LORD: and I will turn away your captivity, and I will gather you from all the nations, and from all the places whither I have driven you, saith the LORD; and I will bring you again into the place whence I caused you to be carried away captive. %%% Nange mulindaba, bw'ayogera Mukama, era ndikyusa nate obusibe bwammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, bw'ayogera Mukama; era ndibakomyawo mu kifo gye nnabaggya okubatwaza okuba abasibe. 24JER029.015 Because ye have said, The LORD hath raised us up prophets in Babylon; %%% Kubanga mwogedde nti Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni. 24JER029.016 Know that thus saith the LORD of the king that sitteth upon the throne of David, and of all the people that dwelleth in this city, and of your brethren that are not gone forth with you into captivity; %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebya kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi, n'eby'abantu bonna abali mu kibuga muno, baganda bammwe abatafulumanga okugenda mu busibe wamu nammwe; 24JER029.017 Thus saith the LORD of hosts; Behold, I will send upon them the sword, the famine, and the pestilence, and will make them like vile figs, that cannot be eaten, they are so evil. %%% bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndisindika ku bo ekitala n'enjala ne kawumpuli, era ndibafuula ng'ettiini ezitaliiko kye zigasa ezitaliika kubanga ziyinze obubi 24JER029.018 And I will persecute them with the sword, with the famine, and with the pestilence, and will deliver them to be removed to all the kingdoms of the earth, to be a curse, and an astonishment, and an hissing, and a reproach, among all the nations whither I have driven them: %%% Era ndibayigganya n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, era ndibawaayo okuyuuguumizibwa mu nsi zonna eza bakabaka eziri ku nsi, okuba ekikolimo n'ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'ekivume mu mawanga gonna gye nnabagobera: 24JER029.019 Because they have not hearkened to my words, saith the LORD, which I sent unto them by my servants the prophets, rising up early and sending them; but ye would not hear, saith the LORD. %%% kubanga tebawulirizza bigambo byange, bw'ayogera Mukama, bye nnatuma abaddu bange bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma; naye ne mutakkiriza kuwulira, bw'ayogera Mukama. 24JER029.020 Hear ye therefore the word of the LORD, all ye of the captivity, whom I have sent from Jerusalem to Babylon: %%% Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna ab'omu busibe, be nnasindika e Babulooni okuva e Yerusaalemi. 24JER029.021 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel, of Ahab the son of Kolaiah, and of Zedekiah the son of Maaseiah, which prophesy a lie unto you in my name; Behold, I will deliver them into the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon; and he shall slay them before your eyes; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri ebya Akabu mutabani wa Kolaya n'ebya Zeddekiya mutabani wa Maaseya ababalagulira mu linnya lyange eky'obulimba, nti Laba, ndibagabula mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni; era alibatta mmwe nga mulaba; 24JER029.022 And of them shall be taken up a curse by all the captivity of Judah which are in Babylon, saying, The LORD make thee like Zedekiah and like Ahab, whom the king of Babylon roasted in the fire; %%% era ku bo kwe baliggya ekikolimo abasibe bonna aba Yuda abali mu Babulooni nga boogera nti Mukama akufuule nga Zeddekiya era nga Akabu kabaka w'e Babulooni be yayokya omuliro: 24JER029.023 Because they have committed villany in Israel, and have committed adultery with their neighbours' wives, and have spoken lying words in my name, which I have not commanded them; even I know, and am a witness, saith the LORD. %%% kubanga bakoze eby'obusirusiru mu Isiraeri, era benze ku bakazi ba bannaabwe, era boogeredde mu linnya lyange ebigambo eby'obulimba bye sibalagiranga; era nze nzuuno amanyi, era nze ndi mujulirwa, bw'ayogera Mukama. 24JER029.024 Thus shalt thou also speak to Shemaiah the Nehelamite, saying, %%% N'ebya Semaaya Omunekeramu onooyogera nti 24JER029.025 Thus speaketh the LORD of hosts, the God of Israel, saying, Because thou hast sent letters in thy name unto all the people that are at Jerusalem, and to Zephaniah the son of Maaseiah the priest, and to all the priests, saying, %%% Bw'ati bw'agamba Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Kubanga oweerezza ebbaluwa ng'oyima mu linnya lyo ggwe eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi n'eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona n'eri bakabona bonna ng'oyogera nti 24JER029.026 The LORD hath made thee priest in the stead of Jehoiada the priest, that ye should be officers in the house of the LORD, for every man that is mad, and maketh himself a prophet, that thou shouldest put him in prison, and in the stocks. %%% Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona mubeere abaami mu nnyumba ya Mukama, olwa buli muntu aliko eddalu ne yeefuula nnabbi, omuteeke mu nvuba ne mu masamba. 24JER029.027 Now therefore why hast thou not reproved Jeremiah of Anathoth, which maketh himself a prophet to you? %%% Kale nno ekikulobedde ki okunenya Yeremiya ow'e Yanasosi eyeefuula nnabbi gye muli, 24JER029.028 For therefore he sent unto us in Babylon, saying, This captivity is long: build ye houses, and dwell in them; and plant gardens, and eat the fruit of them. %%% kubanga yatutumira e Babulooni ng'ayogera nti Obusibe bwa kulwawo: muzimbenga ennyumba, mutuulenga omwo; era musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu? 24JER029.029 And Zephaniah the priest read this letter in the ears of Jeremiah the prophet. %%% Awo Zeffaniya kabona n'asomera ebbaluwa eno mu matu ga Yeremiya nnabbi. 24JER029.030 Then came the word of the LORD unto Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera 24JER029.031 Send to all them of the captivity, saying, Thus saith the LORD concerning Shemaiah the Nehelamite; Because that Shemaiah hath prophesied unto you, and I sent him not, and he caused you to trust in a lie: %%% nti Tumira abo bonna abali mu busibe ng'oyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama ebya Semaaya Omunekeramu nti Kubanga Semaaya abalagudde, so nze simutumanga, era abeesigisizza eky'obulimba; 24JER029.032 Therefore thus saith the LORD; Behold, I will punish Shemaiah the Nehelamite, and his seed: he shall not have a man to dwell among this people; neither shall he behold the good that I will do for my people, saith the LORD; because he hath taught rebellion against the LORD. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibonereza Semaaya Omunekeramu n'ezzadde lye; taliba na musajja wa kutuula mu bantu bano, so taliraba birungi bye ndikola abantu bange, bw'ayogera Mukama: kubanga ayogedde eby'obujeemu eri Mukama. 24JER030.001 The word that came to Jeremiah from the LORD, saying, %%% Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti 24JER030.002 Thus speaketh the LORD God of Israel, saying, Write thee all the words that I have spoken unto thee in a book. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Weewandiikire mu kitabo ebigambo byonna bye nnaakakubuulira. 24JER030.003 For, lo, the days come, saith the LORD, that I will bring again the captivity of my people Israel and Judah, saith the LORD: and I will cause them to return to the land that I gave to their fathers, and they shall possess it. %%% Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndikyusa nate obusibe bw'abantu bange Isiraeri ne Yuda, bw'ayogera Mukama: era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era baligirya. 24JER030.004 And these are the words that the LORD spake concerning Israel and concerning Judah. %%% Era bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebya Isiraeri n'ebya Yuda. 24JER030.005 For thus saith the LORD; We have heard a voice of trembling, of fear, and not of peace. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Tuwulidde eddoboozi ery'okukankana, ery'okutya so si lya mirembe. 24JER030.006 Ask ye now, and see whether a man doth travail with child? wherefore do I see every man with his hands on his loins, as a woman in travail, and all faces are turned into paleness? %%% Mubuuze nno mulabe oba ng'omusajja alumwa okuzaala: kiki ekindabya buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina ng'omukazi alumwa okuzaala, n'amaaso gonna gafuuse ebbala lyago? 24JER030.007 Alas! for that day is great, so that none is like it: it is even the time of Jacob's trouble, but he shall be saved out of it. %%% Woowe kubanga olunaku olwo lukulu so tewali lulwenkana: kye kiseera Yakobo mw'alabira ennaku; naye alirokoka mu zo. 24JER030.008 For it shall come to pass in that day, saith the LORD of hosts, that I will break his yoke from off thy neck, and will burst thy bonds, and strangers shall no more serve themselves of him: %%% Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo kye ku nsingo yo, era ndikutula ebisiba byo; so bannaggwanga nga tebakyamufuula muddu nate: 24JER030.009 But they shall serve the LORD their God, and David their king, whom I will raise up unto them. %%% naye baliba baddu ba Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibayimusiza. 24JER030.010 Therefore fear thou not, O my servant Jacob, saith the LORD; neither be dismayed, O Israel: for, lo, I will save thee from afar, and thy seed from the land of their captivity; and Jacob shall return, and shall be in rest, and be quiet, and none shall make him afraid. %%% Kale totya, ai Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ai Isiraeri: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n'ezzadde lyo nga nnyima mu nsi ey'obusibe bwabwe; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alyessa, so tewaliba alimutiisa. 24JER030.011 For I am with thee, saith the LORD, to save thee: though I make a full end of all nations whither I have scattered thee, yet will I not make a full end of thee: but I will correct thee in measure, and will not leave thee altogether unpunished. %%% Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalira ddala: naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa. 24JER030.012 For thus saith the LORD, Thy bruise is incurable, and thy wound is grievous. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ebbwa lyo teriwonyezeka, n'ekiwundu kyo kya kitalo. 24JER030.013 There is none to plead thy cause, that thou mayest be bound up: thou hast no healing medicines. %%% Tewali wa kukuwolereza, onyigibwe: tolina ddagala eriwonya. 24JER030.014 All thy lovers have forgotten thee; they seek thee not; for I have wounded thee with the wound of an enemy, with the chastisement of a cruel one, for the multitude of thine iniquity; because thy sins were increased. %%% Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakunoonya: kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, okukangavvula okw'omukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde. 24JER030.015 Why criest thou for thine affliction? thy sorrow is incurable for the multitude of thine iniquity: because thy sins were increased, I have done these things unto thee. %%% Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? obulumi bwo tebuwonyezeka: kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo. 24JER030.016 Therefore all they that devour thee shall be devoured; and all thine adversaries, every one of them, shall go into captivity; and they that spoil thee shall be a spoil, and all that prey upon thee will I give for a prey. %%% Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu kusibibwa; n'abo abakunyaga baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga ndibagabula okuba omuyiggo. 24JER030.017 For I will restore health unto thee, and I will heal thee of thy wounds, saith the LORD; because they called thee an Outcast, saying, This is Zion, whom no man seeketh after. %%% Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atanoonya. 24JER030.018 Thus saith the LORD; Behold, I will bring again the captivity of Jacob's tents, and have mercy on his dwellingplaces; and the city shall be builded upon her own heap, and the palace shall remain after the manner thereof. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikyusa nate obusibe bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze; n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, n'olubiri lulisigalawo ng'engeri yaalwo bw'eri. 24JER030.019 And out of them shall proceed thanksgiving and the voice of them that make merry: and I will multiply them, and they shall not be few; I will also glorify them, and they shall not be small. %%% Awo mu byo muliva okwebaza n'eddoboozi ly'abo abasanyuka: era ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebaliba bato. 24JER030.020 Their children also shall be as aforetime, and their congregation shall be established before me, and I will punish all that oppress them. %%% Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga. 24JER030.021 And their nobles shall be of themselves, and their governor shall proceed from the midst of them; and I will cause him to draw near, and he shall approach unto me: for who is this that engaged his heart to approach unto me? saith the LORD. %%% N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi kubanga ani eyali ayaŋŋanze okujja we ndi? bw'ayogera Mukama. 24JER030.022 And ye shall be my people, and I will be your God. %%% Nammwe munaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda wammwe. 24JER030.023 Behold, the whirlwind of the LORD goeth forth with fury, a continuing whirlwind: it shall fall with pain upon the head of the wicked. %%% Laba, kibuyaga wa Mukama kye kiruyi kye, afulumye, kibuyaga ayera: aligwa ku mutwe gw'ababi. 24JER030.024 The fierce anger of the LORD shall not return, until he have done it, and until he have performed the intents of his heart: in the latter days ye shall consider it. %%% Obusungu bwa Mukama omukambwe tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza, okutuusa lw'alikomekkereza omutima gwe gye gumaliridde: mu nnaku ez'oluvannyuma mwe mulikitegeerera. 24JER031.001 At the same time, saith the LORD, will I be the God of all the families of Israel, and they shall be my people. %%% Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange. 24JER031.002 Thus saith the LORD, The people which were left of the sword found grace in the wilderness; even Israel, when I went to cause him to rest. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Abantu abafikkawo ku kitala baalaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe nnagenda okumuwummuza 24JER031.003 The LORD hath appeared of old unto me, saying, Yea, I have loved thee with an everlasting love: therefore with lovingkindness have I drawn thee. %%% Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti Weewaawo, nkwagadde n'okwagala okutaliggwaawo: kyenvudde nkuwalula n'ekisa. 24JER031.004 Again I will build thee, and thou shalt be built, O virgin of Israel: thou shalt again be adorned with thy tabrets, and shalt go forth in the dances of them that make merry. %%% Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri: oliyonjebwa nate n'ebitaasa byo, era olifuluma mu kuzina ku abo abasanyuka. 24JER031.005 Thou shalt yet plant vines upon the mountains of Samaria: the planters shall plant, and shall eat them as common things. %%% Olisimba nate ensuku ez'emizabbibu ku nsozi ez'e Samaliya: abasimbi balisimba ne balya ebibala byamu. 24JER031.006 For there shall be a day, that the watchmen upon the mount Ephraim shall cry, Arise ye, and let us go up to Zion unto the LORD our God. %%% Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikaaba nti Mugolokoke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe. 24JER031.007 For thus saith the LORD; Sing with gladness for Jacob, and shout among the chief of the nations: publish ye, praise ye, and say, O LORD, save thy people, the remnant of Israel. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Muyimbe olwa Yakobo n'essanyu, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga: mulange, mutendereze, mwogere nti Ai Mukama, lokola abantu bo abafisseewo ku Isiraeri. 24JER031.008 Behold, I will bring them from the north country, and gather them from the coasts of the earth, and with them the blind and the lame, the woman with child and her that travaileth with child together: a great company shall return thither. %%% Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiika obwa kkono, ne mbakuŋŋaanya okuva mu njuyi z'ensi ezikomererayo, era wamu nabo omuzibe w'amaaso n'awenyera, omukazi ali olubuto n'oyo alumwa okuzaala wamu: balikomawo wano ekibiina kinene. 24JER031.009 They shall come with weeping, and with supplications will I lead them: I will cause them to walk by the rivers of waters in a straight way, wherein they shall not stumble: for I am a father to Israel, and Ephraim is my firstborn. %%% Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira: ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittala: kubanga ndi kitaawe eri Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange. 24JER031.010 Hear the word of the LORD, O ye nations, and declare it in the isles afar off, and say, He that scattered Israel will gather him, and keep him, as a shepherd doth his flock. %%% Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisibo kye 24JER031.011 For the LORD hath redeemed Jacob, and ransomed him from the hand of him that was stronger than he. %%% Kubanga Mukama anunudde Yakobo, era amuguze okumuggya mu mukono gw'oyo eyamusinga amaanyi. 24JER031.012 Therefore they shall come and sing in the height of Zion, and shall flow together to the goodness of the LORD, for wheat, and for wine, and for oil, and for the young of the flock and of the herd: and their soul shall be as a watered garden; and they shall not sorrow any more at all. %%% Kale balijja ne bayimbira ku ntikko ya Sayuuni, era balikulukutira wamu awali obulungi bwa Mukama, awali eŋŋaano n'awali omwenge n'awali amafuta n'awali abaana b'embuzi n'ab'ente: n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, so tebalibaako buyinike nate n'akatono. 24JER031.013 Then shall the virgin rejoice in the dance, both young men and old together: for I will turn their mourning into joy, and will comfort them, and make them rejoice from their sorrow. %%% Awo omuwala lw'alisanyukira amazina, n'abalenzi n'abakadde wamu: kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe. 24JER031.014 And I will satiate the soul of the priests with fatness, and my people shall be satisfied with my goodness, saith the LORD. %%% Era ndinyiya amasavu, emmeeme ya bakabona, n'abantu bange balinyiwa obulungi bwange, bw'ayogera Mukama. 24JER031.015 Thus saith the LORD; A voice was heard in Ramah, lamentation, and bitter weeping; Rahel weeping for her children refused to be comforted for her children, because they were not. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tewakyali. 24JER031.016 Thus saith the LORD; Refrain thy voice from weeping, and thine eyes from tears: for thy work shall be rewarded, saith the LORD; and they shall come again from the land of the enemy. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n’amaaso go galeme okuleeta amaziga: kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe. 24JER031.017 And there is hope in thine end, saith the LORD, that thy children shall come again to their own border. %%% Era waliwo essuubi ery'enkomerero yo, bw'ayogera Mukama; n'abaana bo balijja nate mu nsalo yaabwe bo. 24JER031.018 I have surely heard Ephraim bemoaning himself thus; Thou hast chastised me, and I was chastised, as a bullock unaccustomed to the yoke: turn thou me, and I shall be turned; for thou art the LORD my God. %%% Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti Onkangavvudde ne nkagavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkyusa ggwe nange naakyusibwa; kubanga ggwe Mukama Katonda wange. 24JER031.019 Surely after that I was turned, I repented; and after that I was instructed, I smote upon my thigh: I was ashamed, yea, even confounded, because I did bear the reproach of my youth. %%% Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange: nakwatibwa ensonyi, weewaawo, naswala kubanga nasitula ekivume eky'omu buto bwange. 24JER031.020 Is Ephraim my dear son? is he a pleasant child? for since I spake against him, I do earnestly remember him still: therefore my bowels are troubled for him; I will surely have mercy upon him, saith the LORD. %%% Efulayimu mwana wange omwagalwa? mwana ansanyusa? kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini: omwoyo gwange kyeguvudde gunnuma ku lulwe; sirirema kumukwatirwa kisa, bw'ayogera Mukama. 24JER031.021 Set thee up waymarks, make thee high heaps: set thine heart toward the highway, even the way which thou wentest: turn again, O virgin of Israel, turn again to these thy cities. %%% Weesimbire obubonero ku kkubo, weekolere empagi ezitegeeza: teeka omutima gwo awali oluguudo, lye kkubo lye wafulumamu: komawo, ai omuwala wa Isiraeri, komawo mu bibuga byo bino. 24JER031.022 How long wilt thou go about, O thou backsliding daughter? for the LORD hath created a new thing in the earth, A woman shall compass a man. %%% Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ai ggwe omuwala adda ennyuma? kubanga Mukama atonze ekigambo ekiggya mu nsi, omukazi alyetooloola omusajja. 24JER031.023 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; As yet they shall use this speech in the land of Judah and in the cities thereof, when I shall bring again their captivity; The LORD bless thee, O habitation of justice, and mountain of holiness. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ne boogera nate ekigambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo obusibe bwabwe, nti Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu. 24JER031.024 And there shall dwell in Judah itself, and in all the cities thereof together, husbandmen, and they that go forth with flocks. %%% Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula omwo wamu; abalimi n'abo abatambula nga balina ebisibo. 24JER031.025 For I have satiated the weary soul, and I have replenished every sorrowful soul. %%% Kubanga nzikusizza emmeeme ekooye, na buli mmeeme eriko obuyinike ngijjuzizza. 24JER031.026 Upon this I awaked, and beheld; and my sleep was sweet unto me. %%% Awo ne ndyoka nzuukuka ne ndaba; otulo twange ne tumpoomera. 24JER031.027 Behold, the days come, saith the LORD, that I will sow the house of Israel and the house of Judah with the seed of man, and with the seed of beast. %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndisiga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda n'ensigo ey'abantu n'ensigo ey'ensolo. 24JER031.028 And it shall come to pass, that like as I have watched over them, to pluck up, and to break down, and to throw down, and to destroy, and to afflict; so will I watch over them, to build, and to plant, saith the LORD. %%% Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya n'okusuula n'okuzikiriza n'okubonyaabonya; bwe ntyo bwe ndibalabirira okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama. 24JER031.029 In those days they shall say no more, The fathers have eaten a sour grape, and the children's teeth are set on edge. %%% Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera. 24JER031.030 But every one shall die for his own iniquity: every man that eateth the sour grape, his teeth shall be set on edge. %%% Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivti bwe ye: buli muntu alya ezabbibu ezinyuunyuntula, amannyo ge ge galinyenyeera. 24JER031.031 Behold, the days come, saith the LORD, that I will make a new covenant with the house of Israel, and with the house of Judah: %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda: 24JER031.032 Not according to the covenant that I made with their fathers in the day that I took them by the hand to bring them out of the land of Egypt; which my covenant they brake, although I was an husband unto them, saith the LORD: %%% si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama. 24JER031.033 But this shall be the covenant that I will make with the house of Israel; After those days, saith the LORD, I will put my law in their inward parts, and write it in their hearts; and will be their God, and they shall be my people. %%% Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange: 24JER031.034 And they shall teach no more every man his neighbour, and every man his brother, saying, Know the LORD: for they shall all know me, from the least of them unto the greatest of them, saith the LORD: for I will forgive their iniquity, and I will remember their sin no more. %%% nga olwo omuntu tokyayigiriza munne na buli muntu muganda we nga boogera nti Manya Mukama: kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama: kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate. 24JER031.035 Thus saith the LORD, which giveth the sun for a light by day, and the ordinances of the moon and of the stars for a light by night, which divideth the sea when the waves thereof roar; The LORD of hosts is his name: %%% Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti 24JER031.036 If those ordinances depart from before me, saith the LORD, then the seed of Israel also shall cease from being a nation before me for ever. %%% Ebiragiro bino bwe biriva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirireka okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna. 24JER031.037 Thus saith the LORD; If heaven above can be measured, and the foundations of the earth searched out beneath, I will also cast off all the seed of Israel for all that they have done, saith the LORD. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama. 24JER031.038 Behold, the days come, saith the LORD, that the city shall be built to the LORD from the tower of Hananeel unto the gate of the corner. %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda. 24JER031.039 And the measuring line shall yet go forth over against it upon the hill Gareb, and shall compass about to Goath. %%% Oliboolyawo omugwa ogugera ne gufuluma nga guttulukuse okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa. 24JER031.040 And the whole valley of the dead bodies, and of the ashes, and all the fields unto the brook of Kidron, unto the corner of the horse gate toward the east, shall be holy unto the LORD; it shall not be plucked up, nor thrown down any more for ever. %%% N'ekiwonvu kyonna eky'emirambo n'eky'evvu n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama: so tekirisimbulwa so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna. 24JER032.001 The word that came to Jeremiah from the LORD in the tenth year of Zedekiah king of Judah, which was the eighteenth year of Nebuchadrezzar. %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadduleeza. 24JER032.002 For then the king of Babylon's army besieged Jerusalem: and Jeremiah the prophet was shut up in the court of the prison, which was in the king of Judah's house. %%% Awo mu biro ebyo eggye lya kabaka w'e Babulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi: ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda. 24JER032.003 For Zedekiah king of Judah had shut him up, saying, Wherefore dost thou prophesy, and say, Thus saith the LORD, Behold, I will give this city into the hand of the king of Babylon, and he shall take it; %%% Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti Kiki ekikulaguza n'oyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alikimenya; 24JER032.004 And Zedekiah king of Judah shall not escape out of the hand of the Chaldeans, but shall surely be delivered into the hand of the king of Babylon, and shall speak with him mouth to mouth, and his eyes shall behold his eyes; %%% ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye talirema kuweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, n'amaaso ge galiraba amaaso g'oyo; 24JER032.005 And he shall lead Zedekiah to Babylon, and there shall he be until I visit him, saith the LORD: though ye fight with the Chaldeans, ye shall not prosper. %%% era alitwala Zeddekiya e Babulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjira, bw'ayogera Mukama: newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, temuliraba kisa. 24JER032.006 And Jeremiah said, The word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo Yeremiya n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kyajja gye ndi nga kyogera nti 24JER032.007 Behold, Hanameel the son of Shallum thine uncle shall come unto thee, saying, Buy thee my field that is in Anathoth: for the right of redemption is thine to buy it. %%% Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi: kubanga okuginunula kukwo. 24JER032.008 So Hanameel mine uncle's son came to me in the court of the prison according to the word of the LORD, and said unto me, Buy my field, I pray thee, that is in Anathoth, which is in the country of Benjamin: for the right of inheritance is thine, and the redemption is thine; buy it for thyself. Then I knew that this was the word of the LORD. %%% Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama, n'aŋŋamba nti Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini: kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; weegulire wekka. Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama. 24JER032.009 And I bought the field of Hanameel my uncle's son, that was in Anathoth, and weighed him the money, even seventeen shekels of silver. %%% Ne ngula ennimiro eyali mu Anasosi eri Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu. 24JER032.010 And I subscribed the evidence, and sealed it, and took witnesses, and weighed him the money in the balances. %%% Ne mpandiika erinnya lyange ku kiwandiike ne nkissaako akabonero, ne mpita abajulirwa ne mmupimira effeeza mu minzaani. 24JER032.011 So I took the evidence of the purchase, both that which was sealed according to the law and custom, and that which was open: %%% Awo ne ntoola ekiwanduke eky'okugula, ekyo ekiteekeddwako akabonero ng'etteeka n'empisa bwe biri, era n'ekyo ekitaali kisibe: 24JER032.012 And I gave the evidence of the purchase unto Baruch the son of Neriah, the son of Maaseiah, in the sight of Hanameel mine uncle's son, and in the presence of the witnesses that subscribed the book of the purchase, before all the Jews that sat in the court of the prison. %%% ne mpaayo ekiwandiike eky'okugula eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali n'abajulirwa nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku kiwandiike eky'okugula mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa. 24JER032.013 And I charged Baruch before them, saying, %%% Ne nkuutira Baluki mu maaso gaabwe nga njogera nti 24JER032.014 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Take these evidences, this evidence of the purchase, both which is sealed, and this evidence which is open; and put them in an earthen vessel, that they may continue many days. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ddira ebiwandiike bino, ekiwandiiko kino eky'okugula, ekyo ekiteekeddwako akabonero era n'ekiwandiike kino ekitali kisibe, obitereke mu kintu eky'ebbumba; bimale ennaku nnyingi. 24JER032.015 For thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Houses and fields and vineyards shall be possessed again in this land. %%% Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n’ensuku ez'emizabbibu ne bigulirwa nate mu nsi eno. 24JER032.016 Now when I had delivered the evidence of the purchase unto Baruch the son of Neriah, I prayed unto the LORD, saying, %%% Awo nga mmaze okuwaayo ekiwandiike eky'okugula eri Baluki mutabani wa Neriya, ne nsaba Mukama nga njogera nti 24JER032.017 Ah Lord GOD! behold, thou hast made the heaven and the earth by thy great power and stretched out arm, and there is nothing too hard for thee: %%% Ai Mukama Katonda! laba, watonda eggulu n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogwagololwa; tewali kigambo kikulema: 24JER032.018 Thou shewest lovingkindness unto thousands, and recompensest the iniquity of the fathers into the bosom of their children after them: the Great, the Mighty God, the LORD of hosts, is his name, %%% akola enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo; Katonda omukulu ow'amaanyi, Mukama ow'eggye lye linnya lye: 24JER032.019 Great in counsel, and mighty in work: for thine eyes are open upon all the ways of the sons of men: to give every one according to his ways, and according to the fruit of his doings: %%% omukulu mu kuteesa: era ow'amaanyi mu kukola emirimu: amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri: 24JER032.020 Which hast set signs and wonders in the land of Egypt, even unto this day, and in Israel, and among other men; and hast made thee a name, as at this day; %%% eyassaawo obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri ne leero, mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; ne weefunira erinnya nga leero: 24JER032.021 And hast brought forth thy people Israel out of the land of Egypt with signs, and with wonders, and with a strong hand, and with a stretched out arm, and with great terror; %%% n'oggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'obubonero n'eby'amagero n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'entiisa nnyingi; 24JER032.022 And hast given them this land, which thou didst swear to their fathers to give them, a land flowing with milk and honey; %%% n'obawa ensi eno gye walayirira bajjajjaabwe okubawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; 24JER032.023 And they came in, and possessed it; but they obeyed not thy voice, neither walked in thy law; they have done nothing of all that thou commandedst them to do: therefore thou hast caused all this evil to come upon them: %%% ne bayingira ne bagirya; naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola: kyewava obaleetako obubi buno bwonna 24JER032.024 Behold the mounts, they are come unto the city to take it; and the city is given into the hand of the Chaldeans, that fight against it, because of the sword, and of the famine, and of the pestilence: and what thou hast spoken is come to pass; and, behold, thou seest it. %%% laba entuumo, zituuse mu kibuga okukimenya; ekibuga n'ekiweebwayo mu mukono gw'Abakalu daaya abalwana nakyo olw'ekitala n’enjala ne kawumpuli: era ebyo by wayogera bituukiridde; era, laba obitunuulidde. 24JER032.025 And thou hast said unto me, O Lord GOD, Buy thee the field for money, and take witnesses; for the city is given into the hand of the Chaldeans. %%% Era oŋŋambye ai Mukama Katonda, nti Weegulire ennimiro n'ebintu oyite abajulirwa era naye ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya. 24JER032.026 Then came the word of the LORD unto Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti 24JER032.027 Behold, I am the LORD, the God of all flesh: is there any thing too hard for me? %%% Laba, nze ndi Mukama Katonda w'abo bonna abalina omubiri: waliwo ekigambo kyonna ekimema? 24JER032.028 Therefore thus saith the LORD; Behold, I will give this city into the hand of the Chaldeans, and into the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon, and he shall take it: %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gw'Abakaludaaya mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni, era alikimenya: 24JER032.029 And the Chaldeans, that fight against this city, shall come and set fire on this city, and burn it with the houses, upon whose roofs they have offered incense unto Baal, and poured out drink offerings unto other gods, to provoke me to anger. %%% n'Abakaludaaya abawanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza ekibuga kino ne bakyokya n’ennyumba ze baayotererezangako waggulu obubaane Baali, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa okunsunguwaza. 24JER032.030 For the children of Israel and the children of Judah have only done evil before me from their youth: for the children of Israel have only provoked me to anger with the work of their hands, saith the LORD. %%% Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda baakakola ebyali ebibi mu maaso gange ebyereere okuva mu buto bwabwe kubanga abaana ba Isiraeri bansunguwaza busunguwaza n'omulimu ogw'engalo zaabwe, bw'ayogera Mukama. 24JER032.031 For this city hath been to me as a provocation of mine anger and of my fury from the day that they built it even unto this day; that I should remove it from before my face, %%% Kubanga ekibuga kino kyaleetanga obusungu bwange n’ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe baakizimba ne leero; nkijjulule okukiggya mu maaso gange: 24JER032.032 Because of all the evil of the children of Israel and of the children of Judah, which they have done to provoke me to anger, they, their kings, their princes, their priests, and their prophets, and the men of Judah, and the inhabitants of Jerusalem. %%% olw'obubi bwonna obw'abaana ba Isiraeri n'obw'abaana ba Yuda bwe baakola okunsunguwaza, bo ne kakabaka baabwe, abakungu baabwe, bakabona baabwe ne bannabbi baabwe, n'abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi. 24JER032.033 And they have turned unto me the back, and not the face: though I taught them, rising up early and teaching them, yet they have not hearkened to receive instruction. %%% Era bankubye nkoona so si maaso: era newakubadde nga nabayigiriza, nga ngolokoka mu makya ne mbayigiriza; naye tebaawulirizanga okukkiriza okuyiga. 24JER032.034 But they set their abominations in the house, which is called by my name, to defile it. %%% Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange okugyonoona. 24JER032.035 And they built the high places of Baal, which are in the valley of the son of Hinnom, to cause their sons and their daughters to pass through the fire unto Molech; which I commanded them not, neither came it into my mind, that they should do this abomination, to cause Judah to sin. %%% Era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, okuyisa batabani baabwe n'abawala baabwe mu muliro eri Moleki; kye sibalagiranga so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonoonyesa Yuda. 24JER032.036 And now therefore thus saith the LORD, the God of Israel, concerning this city, whereof ye say, It shall be delivered into the hand of the king of Babylon by the sword, and by the famine, and by the pestilence; %%% Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ekibuga kino kye mwogerako nti Kiweereddwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nti 24JER032.037 Behold, I will gather them out of all countries, whither I have driven them in mine anger, and in my fury, and in great wrath; and I will bring them again unto this place, and I will cause them to dwell safely: %%% Laba, ndibakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi: era ndibakomyawo mu kifo kino, era ndibatuuza mirembe: 24JER032.038 And they shall be my people, and I will be their God: %%% era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe: 24JER032.039 And I will give them one heart, and one way, that they may fear me for ever, for the good of them, and of their children after them: %%% era ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo: 24JER032.040 And I will make an everlasting covenant with them, that I will not turn away from them, to do them good; but I will put my fear in their hearts, that they shall not depart from me. %%% era ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, obutakyuka okubaleka okubakola obulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako. 24JER032.041 Yea, I will rejoice over them to do them good, and I will plant them in this land assuredly with my whole heart and with my whole soul. %%% Weewaawo, ndibasanyukira okubakolanga obulungi, era sirirema kubasimba mu nsi eno n'omutima gwange gwonna n'emmeeme yange yonna. 24JER032.042 For thus saith the LORD; Like as I have brought all this great evil upon this people, so will I bring upon them all the good that I have promised them. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nga bwe ndeese obubi buno bwonna obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza. 24JER032.043 And fields shall be bought in this land, whereof ye say, It is desolate without man or beast; it is given into the hand of the Chaldeans. %%% Kale ennimiro zirigulirwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya. 24JER032.044 Men shall buy fields for money, and subscribe evidences, and seal them, and take witnesses in the land of Benjamin, and in the places about Jerusalem, and in the cities of Judah, and in the cities of the mountains, and in the cities of the valley, and in the cities of the south: for I will cause their captivity to return, saith the LORD. %%% Abantu baligula ennimiro n'ebintu, ne bawandiika amannya gaabwe ku biwandiike ne babiteekako obubonero ne bayita abajulirwa mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, bw'ayogera Mukama. 24JER033.001 Moreover the word of the LORD came unto Jeremiah the second time, while he was yet shut up in the court of the prison, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya omulundi ogw'okubiri, bwe yali ng'akyasibibwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti 24JER033.002 Thus saith the LORD the maker thereof, the LORD that formed it, to establish it; the LORD is his name; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama akikola, Mukama akibumba okukinyweza Mukama lye linnya lye; nti 24JER033.003 Call unto me, and I will answer thee, and shew thee great and mighty things, which thou knowest not. %%% Mpita, nange naakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebizibu by'otomanyi. 24JER033.004 For thus saith the LORD, the God of Israel, concerning the houses of this city, and concerning the houses of the kings of Judah, which are thrown down by the mounts, and by the sword; %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ennyumba ez'omu kibuga kino n'eby'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezaabizibwa okulwana ne nkomera n'ekitala, nti 24JER033.005 They come to fight with the Chaldeans, but it is to fill them with the dead bodies of men, whom I have slain in mine anger and in my fury, and for all whose wickedness I have hid my face from this city. %%% Bajja okulwana n'Abakaludaaya, naye kuzijjuza bujjuza mirambo gya bantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, obubi bwabwe bwonna bwe bunkisizisizza amaaso gange ekibuga kino: 24JER033.006 Behold, I will bring it health and cure, and I will cure them, and will reveal unto them the abundance of peace and truth. %%% Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira emirembe n'amazima bingi nnyo nnyini. 24JER033.007 And I will cause the captivity of Judah and the captivity of Israel to return, and will build them, as at the first. %%% Era ndikomyawo obusibe bwa Yuda n'obusibe bwa Isiraeri, era ndibazimba ng'olubereberye. 24JER033.008 And I will cleanse them from all their iniquity, whereby they have sinned against me; and I will pardon all their iniquities, whereby they have sinned, and whereby they have transgressed against me. %%% Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya. 24JER033.009 And it shall be to me a name of joy, a praise and an honour before all the nations of the earth, which shall hear all the good that I do unto them: and they shall fear and tremble for all the goodness and for all the prosperity that I procure unto it. %%% N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'olw'emirembe gyonna bye nkifunira. 24JER033.010 Thus saith the LORD; Again there shall be heard in this place, which ye say shall be desolate without man and without beast, even in the cities of Judah, and in the streets of Jerusalem, that are desolate, without man, and without inhabitant, and without beast, %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oliboolyawo ne muwulirwa mu kifo kino kye mwogerako nti Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise nga temuli muntu newakubadde azibeeramu, era nga temuli nsolo, 24JER033.011 The voice of joy, and the voice of gladness, the voice of the bridegroom, and the voice of the bride, the voice of them that shall say, Praise the LORD of hosts: for the LORD is good; for his mercy endureth for ever: and of them that shall bring the sacrifice of praise into the house of the LORD. For I will cause to return the captivity of the land, as at the first, saith the LORD. %%% eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera: n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndikomyawo obusibe obw'ensi ng'olubereberye, bw'ayogera Mukama w'eggye. 24JER033.012 Thus saith the LORD of hosts; Again in this place, which is desolate without man and without beast, and in all the cities thereof, shall be an habitation of shepherds causing their flocks to lie down. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ne mubeera mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu era nga temuli nsolo, ne mu bibuga byakyo byonna, olusiisira olw'abasumba abagalamiza ebisibo byabwe. 24JER033.013 In the cities of the mountains, in the cities of the vale, and in the cities of the south, and in the land of Benjamin, and in the places about Jerusalem, and in the cities of Judah, shall the flocks pass again under the hands of him that telleth them, saith the LORD. %%% Ebisibo biriyita nate wansi w'emikono gy'oyo abibala mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo ne mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda, bw'ayogera Mukama. 24JER033.014 Behold, the days come, saith the LORD, that I will perform that good thing which I have promised unto the house of Israel and to the house of Judah. %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndituukiriza ekigambo ekyo ekirungi kye nnayogera ku nnyumba ya Isiraeri ne ku nnyumba ya Yuda. 24JER033.015 In those days, and at that time, will I cause the Branch of righteousness to grow up unto David; and he shall execute judgment and righteousness in the land. %%% Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo ndimereza Dawudi Ettabi ery'obutuukirivu; era oyo alituukiriza eby'obutuukirivu n'eby'ensonga mu nsi. 24JER033.016 In those days shall Judah be saved, and Jerusalem shall dwell safely: and this is the name wherewith she shall be called, The LORD our righteousness. %%% Mu nnaku ezo Yuda alirokoka ne Yerusaalemi kirituula mirembe: na lino lye linnya lye kirituumibwa, nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe. 24JER033.017 For thus saith the LORD; David shall never want a man to sit upon the throne of the house of Israel; %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku ntebe ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna; 24JER033.018 Neither shall the priests the Levites want a man before me to offer burnt offerings, and to kindle meat offerings, and to do sacrifice continually. %%% so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka olutata. 24JER033.019 And the word of the LORD came unto Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti 24JER033.020 Thus saith the LORD; If ye can break my covenant of the day, and my covenant of the night, and that there should not be day and night in their season; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo; 24JER033.021 Then may also my covenant be broken with David my servant, that he should not have a son to reign upon his throne; and with the Levites the priests, my ministers. %%% kale n’endagaano eyinzika okumenyeka eri Dawudi omuddu wange, aleme okuba n'omwana okufugira ku ntebe ye; n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange. 24JER033.022 As the host of heaven cannot be numbered, neither the sand of the sea measured: so will I multiply the seed of David my servant, and the Levites that minister unto me. %%% Ng'eggye ery'omu ggulu bwe litayinzika kubalibwa, so n'omusenyu ogw'ennyanja okugerebwa; bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza. 24JER033.023 Moreover the word of the LORD came to Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti 24JER033.024 Considerest thou not what this people have spoken, saying, The two families which the LORD hath chosen, he hath even cast them off? thus they have despised my people, that they should be no more a nation before them. %%% Tolowooza abantu bano bye boogedde! nti Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? bwe batyo bwe banyooma abantu bange baleme okuba nate eggwanga mu maaso gaabwe. 24JER033.025 Thus saith the LORD; If my covenant be not with day and night, and if I have not appointed the ordinances of heaven and earth; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Endagaano yange ey'emisana n'ekiro oba nga tenywera, oba nga sassaawo biragiro by'eggulu n'ensi; 24JER033.026 Then will I cast away the seed of Jacob, and David my servant, so that I will not take any of his seed to be rulers over the seed of Abraham, Isaac, and Jacob: for I will cause their captivity to return, and have mercy on them. %%% kale ndisuula n'ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, nneme okutwala ku zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, era ndibasaasira. 24JER034.001 The word which came unto Jeremiah from the LORD, when Nebuchadnezzar king of Babylon, and all his army, and all the kingdoms of the earth of his dominion, and all the people, fought against Jerusalem, and against all the cities thereof, saying, %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'eggye lye lyonna n'ensi zonna eza bakabaka ez'oku nsi zaatwala n'amawanga gonna bwe baalwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byakyo byonna, nga kyogera nti 24JER034.002 Thus saith the LORD, the God of Israel; Go and speak to Zedekiah king of Judah, and tell him, Thus saith the LORD; Behold, I will give this city into the hand of the king of Babylon, and he shall burn it with fire: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Genda ogambe Zeddekiya kabaka wa Yuda omubuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndigabula ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, era alikyokya omuliro: 24JER034.003 And thou shalt not escape out of his hand, but shalt surely be taken, and delivered into his hand; and thine eyes shall behold the eyes of the king of Babylon, and he shall speak with thee mouth to mouth, and thou shalt go to Babylon. %%% so naawe toliwona mu mukono gwe, naye tolirema kuwambibwa n'oweebwayo mu mukono gwe; n'amaaso go galiraba amaaso ga kabaka w'e Babulooni, era alyogera naawe akamwa n'akamwa, era oligenda e Babulooni. 24JER034.004 Yet hear the word of the LORD, O Zedekiah king of Judah; Thus saith the LORD of thee, Thou shalt not die by the sword: %%% Era naye wulira ekigambo kya Mukama, ai Zeddekiya kabaka wa Yuda; bw'ati bw'ayogera Mukama ku ggwe nti Tolifa na kitala; 24JER034.005 But thou shalt die in peace: and with the burnings of thy fathers, the former kings which were before thee, so shall they burn odours for thee; and they will lament thee, saying, Ah lord! for I have pronounced the word, saith the LORD. %%% olifa mirembe; era ng'okwokya bwe kwabanga okwa bajjajjaabo bassekabaka ab'edda abaakusooka, bwe batyo bwe balikukolera okwokya; era balikukungubagira nga boogera nti Woowe, Mukama waffe! kubanga njogedde ekigambo ekyo, bw'ayogera Mukama. 24JER034.006 Then Jeremiah the prophet spake all these words unto Zedekiah king of Judah in Jerusalem, %%% Awo Yeremiya nnabbi n'agamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ebigambo ebyo byonna mu Yerusaalemi, 24JER034.007 When the king of Babylon's army fought against Jerusalem, and against all the cities of Judah that were left, against Lachish, and against Azekah: for these defenced cities remained of the cities of Judah. %%% eggye lya kabaka w’e Babulooni bwe lyali nga lirwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bisigaddewo, Lakisi ne Azeka; kubanga ebyo byokka bye byasigalawo ku bibuga bya Yuda nga biriko enkomera. 24JER034.008 This is the word that came unto Jeremiah from the LORD, after that the king Zedekiah had made a covenant with all the people which were at Jerusalem, to proclaim liberty unto them; %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yali ng'amaze okulagaana endagaano n'abantu bonna abaali mu Yerusaalemi, okubalangira eddembe; 24JER034.009 That every man should let his manservant, and every man his maidservant, being an Hebrew or an Hebrewess, go free; that none should serve himself of them, to wit, of a Jew his brother. %%% buli muntu ate omuddu we na buli muntu ate omuzaana we, oba nga Omwebbulaniya, musajja oba mukazi, okuba ow'eddembe; waleme okubaawo abafuula abaddu, Omuyudaaya muganda we: 24JER034.010 Now when all the princes, and all the people, which had entered into the covenant, heard that every one should let his manservant, and every one his maidservant, go free, that none should serve themselves of them any more, then they obeyed, and let them go. %%% awo abakungu bonna n'abantu bonna ne bagonda, abaali balagaanye endagaano buli muntu okuta omuddu we na buli muntu okuta omuzaana we okuba ow'eddembe, baleme kufuulibwa abaddu nate; ne bagonda ne babata: 24JER034.011 But afterward they turned, and caused the servants and the handmaids, whom they had let go free, to return, and brought them into subjection for servants and for handmaids. %%% naye oluvannyuma ne bakyuka, ne bakomyawo abaddu n'abazaana be baali batadde, ne babafuga okuba abaddu n'abazaana: 24JER034.012 Therefore the word of the LORD came to Jeremiah from the LORD, saying, %%% ekigambo kya Mukama kyekyava kijjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti 24JER034.013 Thus saith the LORD, the God of Israel; I made a covenant with your fathers in the day that I brought them forth out of the land of Egypt, out of the house of bondmen, saying, %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nalagaana endagaano ne bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri mu nnyumba ey'obuddu, nga njogera nti 24JER034.014 At the end of seven years let ye go every man his brother an Hebrew, which hath been sold unto thee; and when he hath served thee six years, thou shalt let him go free from thee: but your fathers hearkened not unto me, neither inclined their ear. %%% Emyaka musanvu bwe giggwangako, mutanga buli muntu muganda we Omwebbulaniya gwe baakuguza era eyakuweerereza emyaka mukaaga, omutanga okuba ow'eddembe okuva w'oli: naye bajjajjammwe ne batampulira, so tebaatega kutu kwabwe. 24JER034.015 And ye were now turned, and had done right in my sight, in proclaiming liberty every man to his neighbour; and ye had made a covenant before me in the house which is called by my name: %%% Nammwe kaakano mwali mukyuse era nga mukoze ekiri mu maaso gange ekirungi, nga mulangirira eddembe buli muntu eri munne; era mwali mulagaanidde endagaano mu maaso gange mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange: 24JER034.016 But ye turned and polluted my name, and caused every man his servant, and every man his handmaid, whom he had set at liberty at their pleasure, to return, and brought them into subjection, to be unto you for servants and for handmaids. %%% Naye ne mukyuka ne muvumisa erinnya lyange, ne mukomyawo buli muntu omuddu we na buli muntu omuzaana we, be mwali mutadde okuba ab'eddembe nga bwe baagala; ne mubafuga okuba gye muli abaddu n'abazaana. 24JER034.017 Therefore thus saith the LORD; Ye have not hearkened unto me, in proclaiming liberty, every one to his brother, and every man to his neighbour: behold, I proclaim a liberty for you, saith the LORD, to the sword, to the pestilence, and to the famine; and I will make you to be removed into all the kingdoms of the earth. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Temumpulidde okulangira eddembe buli muntu eri muganda we na buli muntu eri munne: laba, nze mbalangira mmwe eddembe, bw'ayogera Mukama, eri ekitala n'eri kawumpuli n'eri enjala; era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka ez'oku ttaka. 24JER034.018 And I will give the men that have transgressed my covenant, which have not performed the words of the covenant which they had made before me, when they cut the calf in twain, and passed between the parts thereof, %%% Era ndiwaayo abasajja abaasobya endagaano yange abatakoze bigambo bya ndagaano gye baalagaanira mu maaso gange, bwe baasala mu nnyana ebitundu ebibiri ne bayita wakati w'ebitundu byayo; 24JER034.019 The princes of Judah, and the princes of Jerusalem, the eunuchs, and the priests, and all the people of the land, which passed between the parts of the calf; %%% Abakungu ba Yuda n'abakungu ba Yerusaalemi, abalaawe ne bakabona n'abantu bonna ab'omu nsi abaayita wakati w'ebitundu by'ennyana; 24JER034.020 I will even give them into the hand of their enemies, and into the hand of them that seek their life: and their dead bodies shall be for meat unto the fowls of the heaven, and to the beasts of the earth. %%% okuwaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe giriba nmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n’eri ensolo ez'omu nsi. 24JER034.021 And Zedekiah king of Judah and his princes will I give into the hand of their enemies, and into the hand of them that seek their life, and into the hand of the king of Babylon's army, which are gone up from you. %%% Era Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gw'eggye lya kabaka w’e Babulooni ababavuddeko abambuse. 24JER034.022 Behold, I will command, saith the LORD, and cause them to return to this city; and they shall fight against it, and take it, and burn it with fire: and I will make the cities of Judah a desolation without an inhabitant. %%% Laba, ndiragira, bw'ayogera Mukama, ne mbakomyawo ku kibuga kino; era balirwana nakyo ne bakimenya ne bakyokya omuliro: era ndifuula ebibuga bya Yuda amatongo nga temuli abibeeramu. 24JER035.001 The word which came unto Jeremiah from the LORD in the days of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah, saying, %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti 24JER035.002 Go unto the house of the Rechabites, and speak unto them, and bring them into the house of the LORD, into one of the chambers, and give them wine to drink. %%% Genda eri ekika eky'Abalekabu oyogere nabo obayingize mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge ekimu, obawe omwenge okunywa. 24JER035.003 Then I took Jaazaniah the son of Jeremiah, the son of Habaziniah, and his brethren, and all his sons, and the whole house of the Rechabites; %%% Kale ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu; 24JER035.004 And I brought them into the house of the LORD, into the chamber of the sons of Hanan, the son of Igdaliah, a man of God, which was by the chamber of the princes, which was above the chamber of Maaseiah the son of Shallum, the keeper of the door: %%% ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyaliraana ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi: 24JER035.005 And I set before the sons of the house of the Rechabites pots full of wine, and cups, and I said unto them, Drink ye wine. %%% ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti Munywe omwenge. 24JER035.006 But they said, We will drink no wine: for Jonadab the son of Rechab our father commanded us, saying, Ye shall drink no wine, neither ye, nor your sons for ever: %%% Naye bo ne boogera nti Tetuunywe ku mwenge: kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti Temunywanga ku mwenge, mmwe newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna: 24JER035.007 Neither shall ye build house, nor sow seed, nor plant vineyard, nor have any: but all your days ye shall dwell in tents; that ye may live many days in the land where ye be strangers. %%% so temuzimbanga nnyumba so temusiganga nsigo, so temusimbanga lusuku lwa mizabbibu so temubanga nazo: naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mutuulamu. 24JER035.008 Thus have we obeyed the voice of Jonadab the son of Rechab our father in all that he hath charged us, to drink no wine all our days, we, our wives, our sons, nor our daughters; %%% Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku mwenge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe; 24JER035.009 Nor to build houses for us to dwell in: neither have we vineyard, nor field, nor seed: %%% newakubadde okwezimbira ennyumba okutuulamu: so tetulina lusuku lwa mizabbibu newakubadde ennimiro newakubadde ensigo. 24JER035.010 But we have dwelt in tents, and have obeyed, and done according to all that Jonadab our father commanded us. %%% naye twabanga mu weema ne tugonda ne tukola nga byonna bwe byali Yonadaabu jjajjaffe bye yatulagira. 24JER035.011 But it came to pass, when Nebuchadrezzar king of Babylon came up into the land, that we said, Come, and let us go to Jerusalem for fear of the army of the Chaldeans, and for fear of the army of the Syrians: so we dwell at Jerusalem. %%% Naye olwatuuka Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'olw'okutya eggye ery'Abasuuli; kyetuva tubeera e Yerusaalemi. 24JER035.012 Then came the word of the LORD unto Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya nga kyogera nti 24JER035.013 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Go and tell the men of Judah and the inhabitants of Jerusalem, Will ye not receive instruction to hearken to my words? saith the LORD. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Temukkirize kuyigirizibwa okuwuliriza ebigambo byange? bw'ayogera Mukama. 24JER035.014 The words of Jonadab the son of Rechab, that he commanded his sons not to drink wine, are performed; for unto this day they drink none, but obey their father's commandment: notwithstanding I have spoken unto you, rising early and speaking; but ye hearkened not unto me. %%% Ebigambo bya Yonadaabu mutabani wa Lekabu bye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, byatuukirizibwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe: naye nze nayogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; so temumpulirizanga. 24JER035.015 I have sent also unto you all my servants the prophets, rising up early and sending them, saying, Return ye now every man from his evil way, and amend your doings, and go not after other gods to serve them, and ye shall dwell in the land which I have given to you and to your fathers: but ye have not inclined your ear, nor hearkened unto me. %%% N'okutuma mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temuteganga kutu kwammwe so temumpulirizanga. 24JER035.016 Because the sons of Jonadab the son of Rechab have performed the commandment of their father, which he commanded them; but this people hath not hearkened unto me: %%% Kubanga batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebampulirizza; 24JER035.017 Therefore thus saith the LORD God of hosts, the God of Israel; Behold, I will bring upon Judah and upon all the inhabitants of Jerusalem all the evil that I have pronounced against them: because I have spoken unto them, but they have not heard; and I have called unto them, but they have not answered. %%% Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi obubi bwonna bwe nnaakaboogerako: kubanga nayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba. 24JER035.018 And Jeremiah said unto the house of the Rechabites, Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Because ye have obeyed the commandment of Jonadab your father, and kept all his precepts, and done according unto all that he hath commanded you: %%% Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjajjammwe ne mukwata byonna bye yakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira; 24JER035.019 Therefore thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Jonadab the son of Rechab shall not want a man to stand before me for ever. %%% Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna. 24JER036.001 And it came to pass in the fourth year of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah, that this word came unto Jeremiah from the LORD, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kino ne kijjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti 24JER036.002 Take thee a roll of a book, and write therein all the words that I have spoken unto thee against Israel, and against Judah, and against all the nations, from the day I spake unto thee, from the days of Josiah, even unto this day. %%% Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiike omwo ebigambo byonna bye nnakubuuliranga eri Isiraeri n'eri Yuda n'eri amawanga gonna, okuva ku lunaku lwe nnayogera naawe, okuva ku mirembe gya Yosiya, ne leero. 24JER036.003 It may be that the house of Judah will hear all the evil which I purpose to do unto them; that they may return every man from his evil way; that I may forgive their iniquity and their sin. %%% Mpozzi ennyumba ya Yuda baliwulira obubi bwonna bwe nteesa okubakola; era badde buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nsonyiwe obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe. 24JER036.004 Then Jeremiah called Baruch the son of Neriah: and Baruch wrote from the mouth of Jeremiah all the words of the LORD, which he had spoken unto him, upon a roll of a book. %%% Awo Yeremiya n'ayita Baluki mutabani wa Neriya; Baluki n'awandiika ku muzingo gw'ekitabo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna ebya Mukama bye yali amubuulidde. 24JER036.005 And Jeremiah commanded Baruch, saying, I am shut up; I cannot go into the house of the LORD: %%% Awo Yeremiya n'alagira Baluki ng'ayogera nti Nsibiddwa; siyinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama: 24JER036.006 Therefore go thou, and read in the roll, which thou hast written from my mouth, the words of the LORD in the ears of the people in the LORD's house upon the fasting day: and also thou shalt read them in the ears of all Judah that come out of their cities. 24JER036.006 kale genda ggwe osome mu muzingo gw'owandiise ng'oggya mu kamwa kange ebigambo bya Mukama, mu matu g'abantu mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusiibirako: era obisomanga ne mu matu g'aba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe. 24JER036.007 It may be they will present their supplication before the LORD, and will return every one from his evil way: for great is the anger and the fury that the LORD hath pronounced against this people. %%% Mpozzi balireeta okwegayirira kwabwe mu maaso ga Mukama, ne badda buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi: kubanga obusungu n'ekiruyi Mukama by'ayogedde eri abantu bano binene. 24JER036.008 And Baruch the son of Neriah did according to all that Jeremiah the prophet commanded him, reading in the book the words of the LORD in the LORD's house. %%% Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akola nga byonna bwe byali Yeremiya nnabbi bye yamulagira, ng'asoma mu kitabo ebigambo bya Mukama mu nnyumba ya Mukama. 24JER036.009 And it came to pass in the fifth year of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah, in the ninth month, that they proclaimed a fast before the LORD to all the people in Jerusalem, and to all the people that came from the cities of Judah unto Jerusalem. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'omwenda, abantu bonna abaali mu Yerusaalemi n'abantu bonna abaava mu bibuga bya Yuda ne bajja e Yerusaalemi ne balangira okusiiba mu maaso ga Mukama. 24JER036.010 Then read Baruch in the book the words of Jeremiah in the house of the LORD, in the chamber of Gemariah the son of Shaphan the scribe, in the higher court, at the entry of the new gate of the LORD's house, in the ears of all the people. %%% Awo Baluki n'asoma mu kitabo ebigambo bya Yeremiya mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, mu luggya olw'engulu awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama, mu matu g'abantu bonna. 24JER036.011 When Michaiah the son of Gemariah, the son of Shaphan, had heard out of the book all the words of the LORD, %%% Awo Mikaaya mutabani wa Gemaliya mutabani wa Safani bwe yawulira mu kitabo ebigambo byonna ebya Mukama, 24JER036.012 Then he went down into the king's house, into the scribe's chamber: and, lo, all the princes sat there, even Elishama the scribe, and Delaiah the son of Shemaiah, and Elnathan the son of Achbor, and Gemariah the son of Shaphan, and Zedekiah the son of Hananiah, and all the princes. %%% n'aserengeta mu nnyumba ya kabaka mu kisenge eky'omuwandiisi: kale, laba, abakungu bonna nga batudde omwo, Erisaama omuwandiisi ne Deraya mutabani wa Semaaya ne Erunasani mutabani wa Akubooli ne Gemaliya mutabani wa Safani ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya n'abakungu bonna. 24JER036.013 Then Michaiah declared unto them all the words that he had heard, when Baruch read the book in the ears of the people. %%% Awo Mikaaya n'alyoka ababuulira ebigambo byonna bye yali awulidde, Baluki bw'asomye ekitabo mu matu g'abantu. 24JER036.014 Therefore all the princes sent Jehudi the son of Nethaniah, the son of Shelemiah, the son of Cushi, unto Baruch, saying, Take in thine hand the roll wherein thou hast read in the ears of the people, and come. So Baruch the son of Neriah took the roll in his hand, and came unto them. %%% Abakungu bonna kyebaava batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki nga boogera nti Ddira omuzingo gw'ekitabo mw'osomye mu matu g'abantu mu mukono gwo, ojje. Awo Baluki mutabani wa Neriya n'addira omuzingo mu mukono gwe n'ajja gye baali. 24JER036.015 And they said unto him, Sit down now, and read it in our ears. So Baruch read it in their ears. %%% Ne bamugamba nti Tuula nno obisome mu matu gaffe. Kale Baluki n'abisoma mu matu gaabwe. 24JER036.016 Now it came to pass, when they had heard all the words, they were afraid both one and other, and said unto Baruch, We will surely tell the king of all these words. %%% Awo olwatuuka bwe baamala okuwulira ebigambo byonna, ne batunulaganako nga batya, ne bagamba Baluki nti Tetuuleme kubuulira kabaka ebigambo ebyo byonna. 24JER036.017 And they asked Baruch, saying, Tell us now, How didst thou write all these words at his mouth? %%% Ne babuuza Baluki nga boogera nti Tubuulire nno, wawandiika otya ebigambo ebyo byonna ng'oggya mu kamwa ke? 24JER036.018 Then Baruch answered them, He pronounced all these words unto me with his mouth, and I wrote them with ink in the book. %%% Awo Baluki n'abaddamu nti Ye yambuulira ebigambo ebyo byonna n'akamwa ke, nange ne mbiwandiika ne buyino. 24JER036.019 Then said the princes unto Baruch, Go, hide thee, thou and Jeremiah; and let no man know where ye be. %%% Awo abakungu ne bagamba Baluki nti Genda weekweke, ggwe ne Yeremiya; so omuntu yenna aleme okumanya gye muli. 24JER036.020 And they went in to the king into the court, but they laid up the roll in the chamber of Elishama the scribe, and told all the words in the ears of the king. %%% Awo ne bayingira eri kabaka mu luggya; naye nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi; ne babuulira ebigambo byonna mu matu ga kabaka. 24JER036.021 So the king sent Jehudi to fetch the roll: and he took it out of Elishama the scribe's chamber. And Jehudi read it in the ears of the king, and in the ears of all the princes which stood beside the king. %%% Awo kabaka n'atuma Yekudi okukima omuzingo: n'aguggya mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Awo Yekudi n'agusoma mu matu ga kabaka ne mu matu g'abakungu bonna abaayimirira okuliraana kabaka. 24JER036.022 Now the king sat in the winterhouse in the ninth month: and there was a fire on the hearth burning before him. %%% Awo kabaka yali atudde mu nnyumba ey'ebiro by'obutiti mu mwezi ogw'omwenda: era omuliro nga guli mu lubumbiro nga gwaka mu maaso ge. 24JER036.023 And it came to pass, that when Jehudi had read three or four leaves, he cut it with the penknife, and cast it into the fire that was on the hearth, until all the roll was consumed in the fire that was on the hearth. %%% Awo olwatuuka Yekudi bwe yamala okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'agusala n'akambe ak'omuwandiisi n'agusuula mu muliro ogwali mu lubumbiro, omuzingo ne guggiira mu muliro ogwali mu lubumbiro. 24JER036.024 Yet they were not afraid, nor rent their garments, neither the king, nor any of his servants that heard all these words. %%% So tebaatya so tebaayuza byambalo byabwe, kabaka newakubadde abaddu be n'omu abaawulira ebigambo ebyo byonna. 24JER036.025 Nevertheless Elnathan and Delaiah and Gemariah had made intercession to the king that he would not burn the roll: but he would not hear them. %%% Era nate Erunasani ne Deraya ne Gemaliya baali bamwegayiridde kabaka obutayokya muzingo; naye n'atakkiriza kubawulira. 24JER036.026 But the king commanded Jerahmeel the son of Hammelech, and Seraiah the son of Azriel, and Shelemiah the son of Abdeel, to take Baruch the scribe and Jeremiah the prophet: but the LORD hid them. %%% Awo kabaka n'alagira Yerameeri omwana wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azuliyeeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne Yeremiya nnabbi: naye Mukama n'abakweka. 24JER036.027 Then the word of the LORD came to Jeremiah, after that the king had burned the roll, and the words which Baruch wrote at the mouth of Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, kabaka ng'amaze okwokya omuzingo n'ebigambo Baluki bye yawandiika ng'abiggya mu kamwa ka Yeremiya, nga kyogera nti 24JER036.028 Take thee again another roll, and write in it all the former words that were in the first roll, which Jehoiakim the king of Judah hath burned. %%% Ddira nate omuzingo omulala, owandiike omwo ebigambo byonna ebyasooka ebyali mu muzingo ogw'olubereberye Yekoyakimu kabaka wa Yuda gw'ayokezza. 24JER036.029 And thou shalt say to Jehoiakim king of Judah, Thus saith the LORD; Thou hast burned this roll, saying, Why hast thou written therein, saying, The king of Babylon shall certainly come and destroy this land, and shall cause to cease from thence man and beast? %%% Era ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda olyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oyokezza omuzingo guno ng'oyogera nti Kiki ekikuwandiisizza omwo ng'oyogera nti Kabaka w'e Babulooni talirema kujja n'azikiriza ensi eno, era alimalawo omwo omuntu n'ensolo? 24JER036.030 Therefore thus saith the LORD of Jehoiakim king of Judah; He shall have none to sit upon the throne of David: and his dead body shall be cast out in the day to the heat, and in the night to the frost. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti Taliba na wa kutuula ku ntebe ya Dawudi n'omu: n'omulambo gwe gulisuulibwa eri olubugumu emisana n'eri empewo ekiro. 24JER036.031 And I will punish him and his seed and his servants for their iniquity; and I will bring upon them, and upon the inhabitants of Jerusalem, and upon the men of Judah, all the evil that I have pronounced against them; but they hearkened not. %%% Era ndimubonereza n'ezzadde lye n'abaddu be olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndibaleetako ne ku abo abali mu Yerusaalemi ne ku basajja ba Yuda obubi bwonna bwe nnaakaboogerako, naye ne batawulira. 24JER036.032 Then took Jeremiah another roll, and gave it to Baruch the scribe, the son of Neriah; who wrote therein from the mouth of Jeremiah all the words of the book which Jehoiakim king of Judah had burned in the fire: and there were added besides unto them many like words. %%% Awo Yeremiya n'addira omuzingo ogw'okubiri, n'agumuwa Baluki omuwandiisi mutabani wa Neriya; ye n'awandiika omwo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna eby'omu kitabo Yekoyakimu kabaka wa Yuda kye yayokya mu muliro: era ne byongerwako ebigambo bingi ebibifaanana. 24JER037.001 And king Zedekiah the son of Josiah reigned instead of Coniah the son of Jehoiakim, whom Nebuchadrezzar king of Babylon made king in the land of Judah. %%% Awo Zeddekiya mutabaai wa Yosiya n'afuga nga ye kabaka mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni gwe yafuula kabaka mu nsi ya Yuda. 24JER037.002 But neither he, nor his servants, nor the people of the land, did hearken unto the words of the LORD, which he spake by the prophet Jeremiah. %%% Naye teyawuliranga bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya, ye newakubadde abaddu be newakubadde abantu ab'omu nsi. 24JER037.003 And Zedekiah the king sent Jehucal the son of Shelemiah and Zephaniah the son of Maaseiah the priest to the prophet Jeremiah, saying, Pray now unto the LORD our God for us. %%% Awo Zeddekiya kabaka n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'ayogera nti Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe. 24JER037.004 Now Jeremiah came in and went out among the people: for they had not put him into prison. %%% Era Yeremiya yayingiranga n'afulumanga mu bantu: kubanga baali tebaanamuteeka mu kkomera. 24JER037.005 Then Pharaoh's army was come forth out of Egypt: and when the Chaldeans that besieged Jerusalem heard tidings of them, they departed from Jerusalem. %%% Era eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizza Yerusaalemi bwe baawulira ebigambo byabwe, ne basaasaana okuva ku Yerusaalemi. 24JER037.006 Then came the word of the LORD unto the prophet Jeremiah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kyogera nti 24JER037.007 Thus saith the LORD, the God of Israel; Thus shall ye say to the king of Judah, that sent you unto me to enquire of me; Behold, Pharaoh's army, which is come forth to help you, shall return to Egypt into their own land. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eritabadde okubayamba liridda mu Misiri mu nsi yaabalyo. 24JER037.008 And the Chaldeans shall come again, and fight against this city, and take it, and burn it with fire. %%% Era Abakaludaaya balikomawo ne balwanyisa ekibuga kino; era balikimenya ne bakyokya omuliro. 24JER037.009 Thus saith the LORD; Deceive not yourselves, saying, The Chaldeans shall surely depart from us: for they shall not depart. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temwerimba nga mwogera nti Abakaludaaya tebalirema kutuvaako: kubanga tebalibavaako. 24JER037.010 For though ye had smitten the whole army of the Chaldeans that fight against you, and there remained but wounded men among them, yet should they rise up every man in his tent, and burn this city with fire. %%% Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, era naye bandigolokose buli muntu mu weema ye ne bookya ekibuga kino omuliro: 24JER037.011 And it came to pass, that when the army of the Chaldeans was broken up from Jerusalem for fear of Pharaoh's army, %%% Awo olwatuuka eggye ery'Abakaludaaya bwe lyamala okusaasaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eggye lya Falaawo, 24JER037.012 Then Jeremiah went forth out of Jerusalem to go into the land of Benjamin, to separate himself thence in the midst of the people. %%% kale Yeremiya n’afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe eyo wakati mu bantu. 24JER037.013 And when he was in the gate of Benjamin, a captain of the ward was there, whose name was Irijah, the son of Shelemiah, the son of Hananiah; and he took Jeremiah the prophet, saying, Thou fallest away to the Chaldeans. %%% Awo bwe yali mu mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa yali ali eyo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti Osenga Abakaludaaya. 24JER037.014 Then said Jeremiah, It is false; I fall not away to the Chaldeans. But he hearkened not to him: so Irijah took Jeremiah, and brought him to the princes. %%% Awo Yeremiya n'ayogera nti Olimba; sisenga Bakaludaaya; naye n'atamuwulira: kale Iriya n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu. 24JER037.015 Wherefore the princes were wroth with Jeremiah, and smote him, and put him in prison in the house of Jonathan the scribe: for they had made that the prison. %%% Awo abakungu ne basunguwalira Yeremiya ne bamukuba ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi; kubanga gye baali bafudde ekkomera. 24JER037.016 When Jeremiah was entered into the dungeon, and into the cabins, and Jeremiah had remained there many days; %%% Awo Yeremiya bwe yatuuka mu nnyumba ey'obunnya ne mu buyu, era Yeremiya bwe yali ng'amaze ennaku nnyingi omwo; 24JER037.017 Then Zedekiah the king sent, and took him out: and the king asked him secretly in his house, and said, Is there any word from the LORD? And Jeremiah said, There is: for, said he, thou shalt be delivered into the hand of the king of Babylon. %%% awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'amukima: kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama? Awo Yeremiya n'ayogera nti Weekiri. Era n'ayogera nti Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni. 24JER037.018 Moreover Jeremiah said unto king Zedekiah, What have I offended against thee, or against thy servants, or against this people, that ye have put me in prison? %%% Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti Nali nkwonoonye mu ki oba abaddu bo oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera? 24JER037.019 Where are now your prophets which prophesied unto you, saying, The king of Babylon shall not come against you, nor against this land? %%% Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babulooni talibatabaala, newakubadde ensi eno? 24JER037.020 Therefore hear now, I pray thee, O my lord the king: let my supplication, I pray thee, be accepted before thee; that thou cause me not to return to the house of Jonathan the scribe, lest I die there. %%% Kale nno wulira, nkwegayiridde, ai mukama wange kabaka: okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo. 24JER037.021 Then Zedekiah the king commanded that they should commit Jeremiah into the court of the prison, and that they should give him daily a piece of bread out of the bakers' street, until all the bread in the city were spent. Thus Jeremiah remained in the court of the prison. %%% Kale Zeddekiya kabaka n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva ku luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa. 24JER038.001 Then Shephatiah the son of Mattan, and Gedaliah the son of Pashur, and Jucal the son of Shelemiah, and Pashur the son of Malchiah, heard the words that Jeremiah had spoken unto all the people, saying, %%% Awo Sefatiya mutabani wa Mallani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Seremiya ne Pasukuli mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'ayogera nti 24JER038.002 Thus saith the LORD, He that remaineth in this city shall die by the sword, by the famine, and by the pestilence: but he that goeth forth to the Chaldeans shall live; for he shall have his life for a prey, and shall live. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Asigala mu kibuga muno alifa ekitala n'enjala ne kawumpuli naye oyo afuluma n'agenda eri Abakaludaaya aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu. 24JER038.003 Thus saith the LORD, This city shall surely be given into the hand of the king of Babylon's army, which shall take it. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ekibuga kino tekirirema kuweebwayo mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babulooni, naye alikimenya. 24JER038.004 Therefore the princes said unto the king, We beseech thee, let this man be put to death: for thus he weakeneth the hands of the men of war that remain in this city, and the hands of all the people, in speaking such words unto them: for this man seeketh not the welfare of this people, but the hurt. %%% Awo abakungu ne bagamba kabaka nti Tukwegayiridde, omusajja ono attibwe; kubanga anafuya emikono gy'abasajja abalwanyi abasigadde mu kibuga muno, n'emikono gy'abantu bonna, ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo: kubanga omusajja ono tayagaliza mirembe bantu bano wabula obubi. 24JER038.005 Then Zedekiah the king said, Behold, he is in your hand: for the king is not he that can do any thing against you. %%% Awo Zeddekiya kabaka n'ayogera nti Laba, ali mu mukono gwammwe: kubanga kabaka si ye ayinza okukola ekigambo kyonna okubaziyiza. 24JER038.006 Then took they Jeremiah, and cast him into the dungeon of Malchiah the son of Hammelech, that was in the court of the prison: and they let down Jeremiah with cords. And in the dungeon there was no water, but mire: so Jeremiah sunk in the mire. %%% Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu nnyumba ey'obunnya eya Malukiya omwana wa kabaka eyali mu luggya olw'abambowa: ne bassa Yeremiya n'emigwa. So mu bunnya nga temuli mazzi wabula ebitosi: Yeremiya n'atubira mu bitosi. 24JER038.007 Now when Ebedmelech the Ethiopian, one of the eunuchs which was in the king's house, heard that they had put Jeremiah in the dungeon; the king then sitting in the gate of Benjamin; %%% Awo Ebedumereki Omuwesiyopya omulaawe eyali mu nnyumba ya kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu bunnya; kabaka ng'atudde mu mulyango gwa Benyamini; 24JER038.008 Ebedmelech went forth out of the king's house, and spake to the king, saying, %%% awo Ebedumereki n'ava mu nnyumba ya kabaka n'agamba kabaka nti 24JER038.009 My lord the king, these men have done evil in all that they have done to Jeremiah the prophet, whom they have cast into the dungeon; and he is like to die for hunger in the place where he is: for there is no more bread in the city. %%% Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze Yeremiya nnabbi gwe basudde mu bunnya; era ayagala kufiira mu kifo mw'ali olw'enjala: kubanga tewakyali mmere mu kibuga: 24JER038.010 Then the king commanded Ebedmelech the Ethiopian, saying, Take from hence thirty men with thee, and take up Jeremiah the prophet out of the dungeon, before he die. %%% Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti Ggya wano abasajja amakumi asatu obatwale ogende nabo, olinnyise Yeremiya nnabbi ng'omuggya mu bunnya nga tannafa. 24JER038.011 So Ebedmelech took the men with him, and went into the house of the king under the treasury, and took thence old cast clouts and old rotten rags, and let them down by cords into the dungeon to Jeremiah. %%% Awo Ebedumereki n'atwala abasajja abo n'agenda nabo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka wansi w'eggwanika, n’aggyayo ebiwero ebikadde ebyasuulibwa n’enziina envundu n'azissiza ku migwa mu bunnya eri Yeremiya. 24JER038.012 And Ebedmelech the Ethiopian said unto Jeremiah, Put now these old cast clouts and rotten rags under thine armholes under the cords. And Jeremiah did so. %%% Awo Ebedumereki Omuwesiyopya n'agamba Yeremiya nti Teeka nno ebiwero bino ebikadde ebyasuulibwa n'enziina envundu mu nkwawa zo wansi w'emigwa. Awo Yeremiya n'akola bw'atyo. 24JER038.013 So they drew up Jeremiah with cords, and took him up out of the dungeon: and Jeremiah remained in the court of the prison. %%% Awo ne baggya Yeremiya mu bunnya nga bamuwalula n'emigwa egyo: awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa. 24JER038.014 Then Zedekiah the king sent, and took Jeremiah the prophet unto him into the third entry that is in the house of the LORD: and the king said unto Jeremiah, I will ask thee a thing; hide nothing from me. %%% Awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'aleeta Yeremiya nnabbi gy'ali mu mulyango ogw'okusatu oguli mu nnyumba ya Mukama: awo kabaka n'agamba Yeremiya nti Naakubuuza ekigambo; tonkisa kigambo kyonna. 24JER038.015 Then Jeremiah said unto Zedekiah, If I declare it unto thee, wilt thou not surely put me to death? and if I give thee counsel, wilt thou not hearken unto me? %%% Awo Yeremiya n'agamba Zeddekiya nti Bwe nnaakubuulira, tonzite? era bwe nnaakuweerera amagezi, tompulirize. 24JER038.016 So Zedekiah the king sware secretly unto Jeremiah, saying, As the LORD liveth, that made us this soul, I will not put thee to death, neither will I give thee into the hand of these men that seek thy life. %%% Awo Zeddekiya kabaka n'alayirira kyama Yeremiya ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyatukolera emmeeme eno, sirikutta, so sirikuwaayo mu mukono gw'abantu bano abanoonya obulamu bwo. 24JER038.017 Then said Jeremiah unto Zedekiah, Thus saith the LORD, the God of hosts, the God of Israel; If thou wilt assuredly go forth unto the king of Babylon's princes, then thy soul shall live, and this city shall not be burned with fire; and thou shalt live, and thine house: %%% Awo Yeremiya n'alyoka agamba Zeddekiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Bw'onoofuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale emmeeme yo eriba nnamu n'ekibuga kino tekiryokebwa muliro; 24JER038.018 But if thou wilt not go forth to the king of Babylon's princes, then shall this city be given into the hand of the Chaldeans, and they shall burn it with fire, and thou shalt not escape out of their hand. %%% naawe oliba mulamu n'ennyumba yo: naye bw'otokkirize kufuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale ekibuga kino kiriweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya, era balikyokya omuliro, so naawe tolawona mu mukono gwabwe. 24JER038.019 And Zedekiah the king said unto Jeremiah, I am afraid of the Jews that are fallen to the Chaldeans, lest they deliver me into their hand, and they mock me. %%% Awo Zeddekiya kabaka n'agamba Yeremiya nti ntidde Abayudaaya abasenze Abakaludaaya baleme okumpaayo mu mukono gwabwe, ne banduulira. 24JER038.020 But Jeremiah said, They shall not deliver thee. Obey, I beseech thee, the voice of the LORD, which I speak unto thee: so it shall be well unto thee, and thy soul shall live. %%% Naye Yeremiya n'ayogera nti Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba: kale lw'oliba obulungi, n'emmeeme yo eriba nnamu. 24JER038.021 But if thou refuse to go forth, this is the word that the LORD hath shewed me: %%% Naye bw'onoogana okufuluma, kino kye kigambo Mukama ky'andaze: 24JER038.022 And, behold, all the women that are left in the king of Judah's house shall be brought forth to the king of Babylon's princes, and those women shall say, Thy friends have set thee on, and have prevailed against thee: thy feet are sunk in the mire, and they are turned away back. %%% Laba, abakazi bonna abasigadde mu nnyumba ya kabaka wa Yuda balifulumizibwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, era abakazi abo balyogera nti Mikwano gyo ennyo be baakuwaana, n'okusobola bakusobodde: ebigere byo nga bimaze okutubira mu bitosi, bazze ennyuma. 24JER038.023 So they shall bring out all thy wives and thy children to the Chaldeans: and thou shalt not escape out of their hand, but shalt be taken by the hand of the king of Babylon: and thou shalt cause this city to be burned with fire. %%% Era balifulumya bakazi bo bonna n'abaana bo eri Abakaludaaya: so toliwona mu mukono gwabwe, naye oliwambibwa n'omukono gwa kabaka w'e Babulooni: era olyokesa omuliro ekibuga kino. 24JER038.024 Then said Zedekiah unto Jeremiah, Let no man know of these words, and thou shalt not die. %%% Awo Zeddekiya n'alyoka agamba Yeremiya nti Omuntu yenna aleme okumanya ebigambo ebyo, kale tolifa. 24JER038.025 But if the princes hear that I have talked with thee, and they come unto thee, and say unto thee, Declare unto us now what thou hast said unto the king, hide it not from us, and we will not put thee to death; also what the king said unto thee: %%% Naye abakungu bwe baliwulira nga njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti Tubuulire nno bye wagamba kabaka; tokitukisa, naffe tetuukutte; era n'ebyo kabaka bye yakubuulira; 24JER038.026 Then thou shalt say unto them, I presented my supplication before the king, that he would not cause me to return to Jonathan's house, to die there. %%% kale n'olyoka obagamba nti Naleeta okwegayirira kwange mu maaso ga kabaka aleme okunzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani okufiira omwo. 24JER038.027 Then came all the princes unto Jeremiah, and asked him: and he told them according to all these words that the king had commanded. So they left off speaking with him; for the matter was not perceived. %%% Awo abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza: n'ababuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali kabaka bye yali alagidde. Awo ne balekayo okwogera naye; kubanga ekigambo ekyo tekyategeerebwa. 24JER038.028 So Jeremiah abode in the court of the prison until the day that Jerusalem was taken: and he was there when Jerusalem was taken. %%% Awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa okutuusa ku lunaku Yerusaalemi lwe kyamenyebwa. 24JER039.001 In the ninth year of Zedekiah king of Judah, in the tenth month, came Nebuchadrezzar king of Babylon and all his army against Jerusalem, and they besieged it. %%% Awo olwatuuka Yerusaalemi bwe kyamenyebwa, (mu mwaka ogw'omwenda ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni mwe yajjira n'eggye lye lyonna okutabaala Yerusaalemi n'akizingiza; 24JER039.002 And in the eleventh year of Zedekiah, in the fourth month, the ninth day of the month, the city was broken up. %%% mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zeddekiya mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'omwenda mwe baawagulira ekituli mu kibuga:) 24JER039.003 And all the princes of the king of Babylon came in, and sat in the middle gate, even Nergalsharezer, Samgarnebo, Sarsechim, Rabsaris, Nergalsharezer, Rabmag, with all the residue of the princes of the king of Babylon. %%% abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati, Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babulooni. 24JER039.004 And it came to pass, that when Zedekiah the king of Judah saw them, and all the men of war, then they fled, and went forth out of the city by night, by the way of the king's garden, by the gate betwixt the two walls: and he went out the way of the plain. %%% Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri: n'afuluma mu kkubo erya Alaba. 24JER039.005 But the Chaldeans' army pursued after them, and overtook Zedekiah in the plains of Jericho: and when they had taken him, they brought him up to Nebuchadnezzar king of Babylon to Riblah in the land of Hamath, where he gave judgment upon him. %%% Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libagoberera ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi ez'e Yeriko: awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango. 24JER039.006 Then the king of Babylon slew the sons of Zedekiah in Riblah before his eyes: also the king of Babylon slew all the nobles of Judah. %%% Awo kabaka w'e Babulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula ye ng'alaba: era kabaka w’e Babulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda. 24JER039.007 Moreover he put out Zedekiah's eyes, and bound him with chains, to carry him to Babylon. %%% Era n'aggyamu Zeddekiya amaaso, n'amusiba n'amasamba okumutwala e Babulooni. 24JER039.008 And the Chaldeans burned the king's house, and the houses of the people, with fire, and brake down the walls of Jerusalem. %%% Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n'ennyumba ez'abantu omuliro, ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi. 24JER039.009 Then Nebuzaradan the captain of the guard carried away captive into Babylon the remnant of the people that remained in the city, and those that fell away, that fell to him, with the rest of the people that remained. %%% Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babulooni nga basibe abantu abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abasenze abaamusenga, n'abantu abafisseewo abaali basigaddewo. 24JER039.010 But Nebuzaradan the captain of the guard left of the poor of the people, which had nothing, in the land of Judah, and gave them vineyards and fields at the same time. %%% Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku baavu ab'omu bantu abaali batalina kintu mu nsi ya Yuda, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro mu biro ebyo. 24JER039.011 Now Nebuchadrezzar king of Babylon gave charge concerning Jeremiah to Nebuzaradan the captain of the guard, saying, %%% Awo Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebya Yeremiya ng'ayogera nti 24JER039.012 Take him, and look well to him, and do him no harm; but do unto him even as he shall say unto thee. %%% Mutwale omukuume nnyo, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw'anaakugambanga. 24JER039.013 So Nebuzaradan the captain of the guard sent, and Nebushasban, Rabsaris, and Nergalsharezer, Rabmag, and all the king of Babylon's princes; %%% Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atuma, ne Nebusazubaani, Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, Labumagi, n'abaami bonna abakulu aba kabaka w'e Babulooni; 24JER039.014 Even they sent, and took Jeremiah out of the court of the prison, and committed him unto Gedaliah the son of Ahikam the son of Shaphan, that he should carry him home: so he dwelt among the people. %%% ne batuma ne baggya Yeremiya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka: awo n'abeera mu bantu. 24JER039.015 Now the word of the LORD came unto Jeremiah, while he was shut up in the court of the prison, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa; nga kyogera nti 24JER039.016 Go and speak to Ebedmelech the Ethiopian, saying, Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will bring my words upon this city for evil, and not for good; and they shall be accomplished in that day before thee. %%% Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isirarei nti Laba; ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku luli. 24JER039.017 But I will deliver thee in that day, saith the LORD: and thou shalt not be given into the hand of the men of whom thou art afraid. %%% Naye ndikuwonyeza ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama: so toliweebwayo mu mukono gw'abasajja b'otya. 24JER039.018 For I will surely deliver thee, and thou shalt not fall by the sword, but thy life shall be for a prey unto thee: because thou hast put thy trust in me, saith the LORD. %%% Kubanga Sirirema kukulokola so toligwa n'ekitala, naye obulamu bwo buliba munyago gy'oli: kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama. 24JER040.001 The word that came to Jeremiah from the LORD, after that Nebuzaradan the captain of the guard had let him go from Ramah, when he had taken him being bound in chains among all that were carried away captive of Jerusalem and Judah, which were carried away captive unto Babylon. %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa bwe yamala okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng'asibiddwa mu masamba mu basibe bonna ab'e Yerusaalemi ne Yuda abaatwalibwa e Babulooni nga basibe. 24JER040.002 And the captain of the guard took Jeremiah, and said unto him, The LORD thy God hath pronounced this evil upon this place. %%% Omukulu w'abambowa n'atwala Yeremiya n'amugamba nti Mukama Katonda wo yayogera obubi buno ku kifo kino 24JER040.003 Now the LORD hath brought it, and done according as he hath said: because ye have sinned against the LORD, and have not obeyed his voice, therefore this thing is come upon you. %%% n'okuleeta Mukama abuleese, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako. 24JER040.004 And now, behold, I loose thee this day from the chains which were upon thine hand. If it seem good unto thee to come with me into Babylon, come; and I will look well unto thee: but if it seem ill unto thee to come with me into Babylon, forbear: behold, all the land is before thee: whither it seemeth good and convenient for thee to go, thither go. %%% Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babulooni, jjangu, nange naakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange okugenda e Babulooni, lekayo: laba, ensi yonna eri mu maaso go gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda. 24JER040.005 Now while he was not yet gone back, he said, Go back also to Gedaliah the son of Ahikam the son of Shaphan, whom the king of Babylon hath made governor over the cities of Judah, and dwell with him among the people: or go wheresoever it seemeth convenient unto thee to go. So the captain of the guard gave him victuals and a reward, and let him go. %%% Awo bwe yali nga tannaddayo, n'ayogera nti Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani Safani, kabaka w’e Babulooni gw’awadde okufuga ebibuga bya Yuda, obeere ewuwe mu bantu: oba genda yonna gy'osiima okugenda. Awo omukulu w'abambowa n'amuwa ebyokulya n'ekirabo n'amuta. 24JER040.006 Then went Jeremiah unto Gedaliah the son of Ahikam to Mizpah; and dwelt with him among the people that were left in the land. %%% Awo Yeremiya n'agenda eri Gelaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n'abeera ewuwe mu bantu abaali basigadde mu nsi. 24JER040.007 Now when all the captains of the forces which were in the fields, even they and their men, heard that the king of Babylon had made Gedaliah the son of Ahikam governor in the land, and had committed unto him men, and women, and children, and of the poor of the land, of them that were not carried away captive to Babylon; %%% Awo abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni awadde Gelaliya mutabani wa Akikamu okufuga ensi, era ng'amukwasizza abasajja n'abakazi n'abaana abato ne mu abo abasinga obwavu mu nsi, ku bo abataatwalibwa e Babulooni nga basibe; 24JER040.008 Then they came to Gedaliah to Mizpah, even Ishmael the son of Nethaniah, and Johanan and Jonathan the sons of Kareah, and Seraiah the son of Tanhumeth, and the sons of Ephai the Netophathite, and Jezaniah the son of a Maachathite, they and their men. %%% awo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w'omu Maakasi, bo n'abasajja baabwe. 24JER040.009 And Gedaliah the son of Ahikam the son of Shaphan sware unto them and to their men, saying, Fear not to serve the Chaldeans: dwell in the land, and serve the king of Babylon, and it shall be well with you. %%% Awo Gedaliya nutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n'abalayirira bo n'abasajja baabwe ng'ayogera nti Temutya kuweereza Abakaludaaya: mubeere mu nsi, muweerezenga kabaka w'e Babulooni, era munaabanga bulungi. 24JER040.010 As for me, behold, I will dwell at Mizpah, to serve the Chaldeans, which will come unto us: but ye, gather ye wine, and summer fruits, and oil, and put them in your vessels, and dwell in your cities that ye have taken. %%% Nze, laba, naabeeranga e Mizupa okuyimiriranga mu maaso g'Abakaludaaya abalijja gye tuli: naye mmwe mukuŋŋaanye omwenge n'ebibala eby'omu kyeya n'amafuta, mubiteeke mu bintu byammwe, mubeerenga mu bibuga byammwe bye mulidde. 24JER040.011 Likewise when all the Jews that were in Moab, and among the Ammonites, and in Edom, and that were in all the countries, heard that the king of Babylon had left a remnant of Judah, and that he had set over them Gedaliah the son of Ahikam the son of Shaphan; %%% Era bwe batyo Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu ne mu baana ba Amoni ne mu Edomu n'abo abaali mu nsi zonna bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afissizzaawo ku Yuda era ng'akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu mutabani wa Safani; 24JER040.012 Even all the Jews returned out of all places whither they were driven, and came to the land of Judah, to Gedaliah, unto Mizpah, and gathered wine and summer fruits very much. %%% kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge n'ebibala eby'omu kyeya bingi nnyo nnyini. 24JER040.013 Moreover Johanan the son of Kareah, and all the captains of the forces that were in the fields, came to Gedaliah to Mizpah, %%% Era nate Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa 24JER040.014 And said unto him, Dost thou certainly know that Baalis the king of the Ammonites hath sent Ishmael the son of Nethaniah to slay thee? But Gedaliah the son of Ahikam believed them not. %%% ne bamugamba nti Omanyi nga Baalisi kabaka w'abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta? Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'atabakkiriza. 24JER040.015 Then Johanan the son of Kareah spake to Gedaliah in Mizpah secretly, saying, Let me go, I pray thee, and I will slay Ishmael the son of Nethaniah, and no man shall know it: wherefore should he slay thee, that all the Jews which are gathered unto thee should be scattered, and the remnant in Judah perish? %%% Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng'agamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya: yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanye gy'oli n'okusaasaana ne basaasaana, n'ekitundu kya Yuda ekifisseewo ne kizikirira? 24JER040.016 But Gedaliah the son of Ahikam said unto Johanan the son of Kareah, Thou shalt not do this thing: for thou speakest falsely of Ishmael. %%% Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti Tokola kigambo ekyo: kubanga omuwaayiriza Isimaeri. 24JER041.001 Now it came to pass in the seventh month, that Ishmael the son of Nethaniah the son of Elishama, of the seed royal, and the princes of the king, even ten men with him, came unto Gedaliah the son of Ahikam to Mizpah; and there they did eat bread together in Mizpah. %%% Awo olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisama, ow'oku zzadde lya kabaka, era omu ku baami abakulu aba kabaka, n'abasajja kkumi wamu naye, ne bajja eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa: awo ne baliira eyo emmere wamu e Mizupa. 24JER041.002 Then arose Ishmael the son of Nethaniah, and the ten men that were with him, and smote Gedaliah the son of Ahikam the son of Shaphan with the sword, and slew him, whom the king of Babylon had made governor over the land. %%% Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ayimuka n'abasajja ekkumi abaali naye ne bafumita Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n'ekitala ne bamutta, kabaka w'e Babulooni gwe yali awadde okufuga ensi. 24JER041.003 Ishmael also slew all the Jews that were with him, even with Gedaliah, at Mizpah, and the Chaldeans that were found there, and the men of war. %%% Era Isimaeri n'atta n'Abayudaaya bonna abaali naye, abaali ne Gedaliya e Mizupa, n'Abakaludaaya abaalabika eyo, abasajja abalwanyi. 24JER041.004 And it came to pass the second day after he had slain Gedaliah, and no man knew it, %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'okubiri ng'amaze okutta Gedaliya, so nga tewali muntu akimanyi, 24JER041.005 That there came certain from Shechem, from Shiloh, and from Samaria, even fourscore men, having their beards shaven, and their clothes rent, and having cut themselves, with offerings and incense in their hand, to bring them to the house of the LORD. %%% abamu ne bajja abaava e Sekemu ne Siiro ne Samaliya, abasajja kinaana, nga bamwereddwa ebirevu byabwe n'ebyambalo byabwe nga babiyuzizza, era nga beesaze, nga balina ebitone n'omugavu mu mukono gwabwe okubireeta mu nnyumba ya Mukama. 24JER041.006 And Ishmael the son of Nethaniah went forth from Mizpah to meet them, weeping all along as he went: and it came to pass, as he met them, he said unto them, Come to Gedaliah the son of Ahikam. %%% Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ava mu Mizupa okubasisinkana, ng'agenda ng'akaaba amaziga: awo olwatuuka bwe yasisinkana nabo, n'abagamba nti Mujje eri Gedaliya mutabani wa Akikamu. 24JER041.007 And it was so, when they came into the midst of the city, that Ishmael the son of Nethaniah slew them, and cast them into the midst of the pit, he, and the men that were with him. %%% Awo olwatuuka bwe baatuuka wakati mu kibuga, Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abatta n'abasuula wakati mu bunnya ye n'abasajja abaali naye. 24JER041.008 But ten men were found among them that said unto Ishmael, Slay us not: for we have treasures in the field, of wheat, and of barley, and of oil, and of honey. So he forbare, and slew them not among their brethren. %%% Naye ne mulabika mu bo abasajja kkumi abaagamba Isimaeri nti Totutta: kubanga tulina ebintu ebyaterekebwa ebyakisibwa mu nnimiro, eŋŋaano ne sayiri, n'amafuta, n'omubisi gw'enjuki. Awo n'atabattira wamu ne baganda baabwe. 24JER041.009 Now the pit wherein Ishmael had cast all the dead bodies of the men, whom he had slain because of Gedaliah, was it which Asa the king had made for fear of Baasha king of Israel: and Ishmael the son of Nethaniah filled it with them that were slain. %%% Era obunnya Isimaeri mwe yasuula emirambo gyonna egy'abasajja be yatta, okuliraana Gedaliya, (bwe buli Asa kabaka bwe yasima olw'okutya Baasa kabaka wa Isiraeri,) Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abujjuza abo abattibwa. 24JER041.010 Then Ishmael carried away captive all the residue of the people that were in Mizpah, even the king's daughters, and all the people that remained in Mizpah, whom Nebuzaradan the captain of the guard had committed to Gedaliah the son of Ahikam: and Ishmael the son of Nethaniah carried them away captive, and departed to go over to the Ammonites. %%% Awo Isimaeri n'atwala nga basibe abo bonna abaafikkawo ku bantu abaali mu Mizupa, abawala ba kabaka n'abantu bonna abaali basigadde mu Mizupa, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa be yali ateresezza Gedaliya mutabani wa Nesaniya n'abatwala nga basibe, n'agenda okusomoka okugenda eri abaana ba Amoni. 24JER041.011 But when Johanan the son of Kareah, and all the captains of the forces that were with him, heard of all the evil that Ishmael the son of Nethaniah had done, %%% Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye bwe baawulira obubi bwonna Isimaeri mutabani wa Nesaniya bwe yali akoze, 24JER041.012 Then they took all the men, and went to fight with Ishmael the son of Nethaniah, and found him by the great waters that are in Gibeon. %%% kale ne batwala abasajja bonna ne bagenda okulwana ne Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne bamusanga awali amazzi amangi agali mu Gibyoni. 24JER041.013 Now it came to pass, that when all the people which were with Ishmael saw Johanan the son of Kareah, and all the captains of the forces that were with him, then they were glad. %%% Awo olwatuuka abantu bonna abaali ne Isimaeri bwe baalaba Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, ne basanyuka. 24JER041.014 So all the people that Ishmael had carried away captive from Mizpah cast about and returned, and went unto Johanan the son of Kareah. %%% Awo abantu bonna Isimaeri be yali atutte nga basibe okubaggya e Mizupa, ne bakyuka ne baddayo, ne bagenda eri Yokanani mutabani wa Kaleya. 24JER041.015 But Ishmael the son of Nethaniah escaped from Johanan with eight men, and went to the Ammonites. %%% Naye Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'awona Yokanani ng'alina abasajja munaana, n'agenda eri abaana ba Amoni. 24JER041.016 Then took Johanan the son of Kareah, and all the captains of the forces that were with him, all the remnant of the people whom he had recovered from Ishmael the son of Nethaniah, from Mizpah, after that he had slain Gedaliah the son of Ahikam, even mighty men of war, and the women, and the children, and the eunuchs, whom he had brought again from Gibeon: %%% Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye ne batwala ekitundu kyonna ekifisseewo ku bantu be yali akomezzaawo okubaggya ku Isimaeri mutabani wa Nesaniya, e Mizupa, bwe yamala okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu, abasajja abalwanyi n'abakazi n'abaana abato n'abalaawe be yakomyawo okuva e Gibyoni: 24JER041.017 And they departed, and dwelt in the habitation of Chimham, which is by Bethlehem, to go to enter into Egypt, %%% awo ne baddayo ne babeera mu Gerusukimamu ekiriraanye Besirekemu, okugenda okuyingira mu Misiri, 24JER041.018 Because of the Chaldeans: for they were afraid of them, because Ishmael the son of Nethaniah had slain Gedaliah the son of Ahikam, whom the king of Babylon made governor in the land. %%% olw'Abakaludaaya: kubanga baali babatidde, kubanga Isimaeri mutabani wa Nesaniya yatta Gedaliya mutabani wa Akikamu kabaka w'e Babulooni gwe yawa okufuga ensi. 24JER042.001 Then all the captains of the forces, and Johanan the son of Kareah, and Jezaniah the son of Hoshaiah, and all the people from the least even unto the greatest, came near, %%% Awo abaami bonna ab'ebitongole ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, 24JER042.002 And said unto Jeremiah the prophet, Let, we beseech thee, our supplication be accepted before thee, and pray for us unto the LORD thy God, even for all this remnant; (for we are left but a few of many, as thine eyes do behold us:) %%% ne basembera ne bagamba Yeremiya nnabbi nti Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gy'oli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ekitundu kino kyonna ekifisseewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba: 24JER042.003 That the LORD thy God may shew us the way wherein we may walk, and the thing that we may do. %%% Mukama Katonda wo atulage ekkubo eritugwanira okutambuliramu n'ekigambo ekitugwanira okukola. 24JER042.004 Then Jeremiah the prophet said unto them, I have heard you; behold, I will pray unto the LORD your God according to your words; and it shall come to pass, that whatsoever thing the LORD shall answer you, I will declare it unto you; I will keep nothing back from you. %%% Awo Yeremiya nnabbi n'abagamba nti Mbawulidde; laba, naasaba Mukama Katonda wammwe ng'ebigambo byammwe bwe biri; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna. 24JER042.005 Then they said to Jeremiah, The LORD be a true and faithful witness between us, if we do not even according to all things for the which the LORD thy God shall send thee to us. %%% Awo ne bagamba Yeremiya nti Mukama abe omujulirwa ow'amazima omwesigwa mu ffe, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna bwe kiriba Mukama Katonda wo ky'alikutuma gye tuli. 24JER042.006 Whether it be good, or whether it be evil, we will obey the voice of the LORD our God, to whom we send thee; that it may be well with us, when we obey the voice of the LORD our God. %%% Oba nga kirungi oba nga kibi, tuligondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe gye tukutuma; tulyoke tubenga bulungi bwe tugondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe. 24JER042.007 And it came to pass after ten days, that the word of the LORD came unto Jeremiah. %%% Awo olwatuuka ennaku kkumi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya. 24JER042.008 Then called he Johanan the son of Kareah, and all the captains of the forces which were with him, and all the people from the least even to the greatest, %%% Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, 24JER042.009 And said unto them, Thus saith the LORD, the God of Israel, unto whom ye sent me to present your supplication before him; %%% n'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri gwe mwantuma okwanjula okusaba kwammwe mu maaso ge, nti 24JER042.010 If ye will still abide in this land, then will I build you, and not pull you down, and I will plant you, and not pluck you up: for I repent me of the evil that I have done unto you. %%% Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula: kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola. 24JER042.011 Be not afraid of the king of Babylon, of whom ye are afraid; be not afraid of him, saith the LORD: for I am with you to save you, and to deliver you from his hand. %%% Temutya kabaka w'e Babulooni gwe mutya; temumutya, bw'ayogera Mukama: kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe. 24JER042.012 And I will shew mercies unto you, that he may have mercy upon you, and cause you to return to your own land. %%% Era ndibawa okusaasirwa abasaasire, era abazzeeyo mu nsi yammwe. 24JER042.013 But if ye say, We will not dwell in this land, neither obey the voice of the LORD your God, %%% Naye bwe munaagamba nti Tetugenda kutuula mu nsi eno; ne mutagondera ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe; 24JER042.014 Saying, No; but we will go into the land of Egypt, where we shall see no war, nor hear the sound of the trumpet, nor have hunger of bread; and there will we dwell: %%% nga mwogera nti Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, so tetuliwulira ddoboozi lya kkondeere, so tetulirumwa njala olw'emmere; n'eyo gye tulituula: 24JER042.015 And now therefore hear the word of the LORD, ye remnant of Judah; Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; If ye wholly set your faces to enter into Egypt, and go to sojourn there; %%% kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda: bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Bwe mulikakasa amaaso gammwe ddala okuyingira mu Misiri, ne mugenda okubeera omwo; 24JER042.016 Then it shall come to pass, that the sword, which ye feared, shall overtake you there in the land of Egypt, and the famine, whereof ye were afraid, shall follow close after you there in Egypt; and there ye shall die. %%% kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira. 24JER042.017 So shall it be with all the men that set their faces to go into Egypt to sojourn there; they shall die by the sword, by the famine, and by the pestilence: and none of them shall remain or escape from the evil that I will bring upon them. %%% Bwe kityo bwe kiriba eri abasajja bonna abakakasa amaaso gaabwe okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: so tewaliba ku bo abalifikkawo newakubadde okuwona obubi bwe ndibaleetako. 24JER042.018 For thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; As mine anger and my fury hath been poured forth upon the inhabitants of Jerusalem; so shall my fury be poured forth upon you, when ye shall enter into Egypt: and ye shall be an execration, and an astonishment, and a curse, and a reproach; and ye shall see this place no more. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Obusungu bwange n'ekiruyi kyange nga bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo bwe muliyingira mu Misiri: era muliba kikolimo n'ekyewuunyo n'okukolima n'ekivume; so temuliraba nate kifo kino. 24JER042.019 The LORD hath said concerning you, O ye remnant of Judah; Go ye not into Egypt: know certainly that I have admonished you this day. %%% Mukama ayogedde ku mmwe, ai ekitundu ekifisseewo ku Yuda, nti Temugenda mu Misiri: mutegeerere ddala nga leero nze mbadde mujulirwa gye muli. 24JER042.020 For ye dissembled in your hearts, when ye sent me unto the LORD your God, saying, Pray for us unto the LORD our God; and according unto all that the LORD our God shall say, so declare unto us, and we will do it. %%% Kubanga mukoze emmeeme zammwe mmwe eby'obukuusa; kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba; Mukama Katonda waffe by'alyogera, tubuulire bw'otyo, naffe tulibikola: 24JER042.021 And now I have this day declared it to you; but ye have not obeyed the voice of the LORD your God, nor any thing for the which he hath sent me unto you. %%% era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu kyonna ky'antumye gye muli 24JER042.022 Now therefore know certainly that ye shall die by the sword, by the famine, and by the pestilence, in the place whither ye desire to go and to sojourn. %%% Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, mu kifo gye mwagala okugenda okubeera. 24JER043.001 And it came to pass, that when Jeremiah had made an end of speaking unto all the people all the words of the LORD their God, for which the LORD their God had sent him to them, even all these words, %%% Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonn, ebya Mukama Katonda waabwe Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gye bali, bye bigambo ebyo byonna, 24JER043.002 Then spake Azariah the son of Hoshaiah, and Johanan the son of Kareah, and all the proud men, saying unto Jeremiah, Thou speakest falsely: the LORD our God hath not sent thee to say, Go not into Egypt to sojourn there: %%% awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mu tabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne boogera nga bagamba Yeremiya nti Olimba: Mukama Katonda waffe takutumye okwogera nti Temuyingiranga mu Misiri okubeera omwo: 24JER043.003 But Baruch the son of Neriah setteth thee on against us, for to deliver us into the hand of the Chaldeans, that they might put us to death, and carry us away captives into Babylon. %%% naye Baluki mutabani wa Neriya ye akutuweeredde okutugabula mu mukono gw'Abakaludaaya balyoke batutte batutwale e Babulooni nga tuli basibe. 24JER043.004 So Johanan the son of Kareah, and all the captains of the forces, and all the people, obeyed not the voice of the LORD, to dwell in the land of Judah. %%% Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okubeera mu nsi ya Yuda. 24JER043.005 But Johanan the son of Kareah, and all the captains of the forces, took all the remnant of Judah, that were returned from all nations, whither they had been driven, to dwell in the land of Judah; %%% Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda abaafikkawo abaali bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde okubeera mu nsi ya Yuda; 24JER043.006 Even men, and women, and children, and the king's daughters, and every person that Nebuzaradan the captain of the guard had left with Gedaliah the son of Ahikam the son of Shaphan, and Jeremiah the prophet, and Baruch the son of Neriah. %%% abasajja n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka na buli muntu Nebuzaladaani omukulu wa bambowa gwe yalekera Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya; 24JER043.007 So they came into the land of Egypt: for they obeyed not the voice of the LORD: thus came they even to Tahpanhes. %%% ne bayingira mu nsi y'e Misiri; kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama: ne batuuka n'e Tapanesi. 24JER043.008 Then came the word of the LORD unto Jeremiah in Tahpanhes, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya e Tapanesi nga kyogera nti 24JER043.009 Take great stones in thine hand, and hide them in the clay in the brickkiln, which is at the entry of Pharaoh's house in Tahpanhes, in the sight of the men of Judah; %%% Ddira amayinja amanene mu mukono gwo ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, abasajja ba Yuda nga balaba 24JER043.010 And say unto them, Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will send and take Nebuchadrezzar the king of Babylon, my servant, and will set his throne upon these stones that I have hid; and he shall spread his royal pavilion over them. %%% obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange, ne nteeka entebe ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go. 24JER043.011 And when he cometh, he shall smite the land of Egypt, and deliver such as are for death to death; and such as are for captivity to captivity; and such as are for the sword to the sword. %%% Era alijja n'akuba ensi y'e Misiri; ab'okuttibwa baliweebwawo eri okuttibwa, n’ab'obusibe eri obusibe, n'ab'ekiala eri ekitala. 24JER043.012 And I will kindle a fire in the houses of the gods of Egypt; and he shall burn them, and carry them away captives: and he shall array himself with the land of Egypt, as a shepherd putteth on his garment; and he shall go forth from thence in peace. %%% Era ndikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe: era alyambala ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'ayambala ekyambalo kye; era alivaayo mirenbe. 24JER043.013 He shall break also the images of Bethshemesh, that is in the land of Egypt; and the houses of the gods of the Egyptians shall he burn with fire. %%% Era alimenya empagi ez'e Besusemeesi ekiri mu nsi y'e Misiri; n'ennyumba za bakatonda b'e Misiri alizookya omuliro. 24JER044.001 The word that came to Jeremiah concerning all the Jews which dwell in the land of Egypt, which dwell at Migdol, and at Tahpanhes, and at Noph, and in the country of Pathros, saying, %%% Ekigambo ekyajjira Yeremiya ku Bayudaaya bonna abaabeera mu nsi y'e Misiri, abaabeera e Migudooli ne Tapanesi ne Noofu mu nsi ey'e Pasuloosi, nga kyogera nti 24JER044.002 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Ye have seen all the evil that I have brought upon Jerusalem, and upon all the cities of Judah; and, behold, this day they are a desolation, and no man dwelleth therein, %%% Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulabye obubi bwonna bwe naleeta ku Yerusaalemi ne ku kibuga byonna ebya Yuda; era, laba, leero matongo, so tewali muntu abeera omwo; 24JER044.003 Because of their wickedness which they have committed to provoke me to anger, in that they went to burn incense, and to serve other gods, whom they knew not, neither they, ye, nor your fathers. %%% olw'obubi bwabwe bwe bakoze okunsunguwaza, kubanga baagenda okwoteza obubaane n'okuweereza bakatonda abalala be batamanyanga bo newaakubadde mmwe newakubadde bajjajjammwe. 24JER044.004 Howbeit I sent unto you all my servants the prophets, rising early and sending them, saying, Oh, do not this abominable thing that I hate. %%% Era naye nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Abaffe! temukola kigambo kino eky'omuzizo kye nkyawa. 24JER044.005 But they hearkened not, nor inclined their ear to turn from their wickedness, to burn no incense unto other gods. %%% Naye ne batawuliriza so tebaatega kutu okukyuka okuleka obubi bwabwe, obutayoterezanga bakatonda abalala obubaane. 24JER044.006 Wherefore my fury and mine anger was poured forth, and was kindled in the cities of Judah and in the streets of Jerusalem; and they are wasted and desolate, as at this day. %%% Ekiruyi kyange n'obusungu bwange kyebwava bufukibwa ne bubuubuuka mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; era bizise birekeddwa awo, nga bwe kiri leero. 24JER044.007 Therefore now thus saith the LORD, the God of hosts, the God of Israel; Wherefore commit ye this great evil against your souls, to cut off from you man and woman, child and suckling, out of Judah, to leave you none to remain; %%% Kale nno Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw’ati nti Kiki ekibakoza ekibi ekyenkana awo okwonoona emmeeme zammwe mmwe, okwemalirawo omusajja n'omukazi, omwana n'ayonka, wakati mu Yuda, obutabalekera abasigalawo; 24JER044.008 In that ye provoke me unto wrath with the works of your hands, burning incense unto other gods in the land of Egypt, whither ye be gone to dwell, that ye might cut yourselves off, and that ye might be a curse and a reproach among all the nations of the earth? %%% kubanga munsunguwaza n'emirimu egy'emikono gyammwe, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane mu nsi y'e Misiri gye mwagenda okubeera; mulyoke mumalibwewo, era mubeere ekikolimo n'ekivume mu mawanga gonna ag'omu nsi? 24JER044.009 Have ye forgotten the wickedness of your fathers, and the wickedness of the kings of Judah, and the wickedness of their wives, and your own wickedness, and the wickedness of your wives, which they have committed in the land of Judah, and in the streets of Jerusalem? %%% Mwerabidde obubi bwa bajjajjammwe n'obubi bwa bassekabaka ba Yuda n'obubi bw'abakazi baabwe n'obubi bwammwe mmwe n'obubi bw'abakazi bammwe bwe baakolera mu nsi ya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi? 24JER044.010 They are not humbled even unto this day, neither have they feared, nor walked in my law, nor in my statutes, that I set before you and before your fathers. %%% Tebannaba kumalwamu malala ne leero, so tebannatya, so tebatambulidde mu mateeka gange newakubadde mu biragiro byange bye nnateeka mu maaso gammwe ne mu maaso ga bajjajjammwe. 24JER044.011 Therefore thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will set my face against you for evil, and to cut off all Judah. %%% Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikakasa amaaso gange okuboolekera olw'obubi, okuzikiriza Yuda yenna. 24JER044.012 And I will take the remnant of Judah, that have set their faces to go into the land of Egypt to sojourn there, and they shall all be consumed, and fall in the land of Egypt; they shall even be consumed by the sword and by the famine: they shall die, from the least even unto the greatest, by the sword and by the famine: and they shall be an execration, and an astonishment, and a curse, and a reproach. %%% Era ndiddira ekitundu kya Yuda ekifisseewo abakakasizza amaaso gaabwe okuyingira mu nsi y'e Misiri okutuula omwo, era bonna balimalibwawo; mu nsi y'e Misiri mwe baligwira; balimalibwawo n'ekitala n'enjala; balifa, okuva ku muto okutuuka ku mukulu, n'ekitala n'enjala: era baliba kikolimo n'ekyewuunyo n'okukolima n'ekivume. 24JER044.013 For I will punish them that dwell in the land of Egypt, as I have punished Jerusalem, by the sword, by the famine, and by the pestilence: %%% Kubanga ndibonereza abo abatuula mu nsi y'e Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: 24JER044.014 So that none of the remnant of Judah, which are gone into the land of Egypt to sojourn there, shall escape or remain, that they should return into the land of Judah, to the which they have a desire to return to dwell there: for none shall return but such as shall escape. %%% ne ku kitundu kya Yuda ekifisseewo abambuse okugenda mu nsi y'e Misiri okubeera omwo ne kutabaako aliwona newakubadde alisigalawo, balyoke bakomewo mu nsi ya Yuda gye baayagala okudda okubeera: kubanga tewaliba abalikomawo wabula abo abaliwonya obuwonyi. 24JER044.015 Then all the men which knew that their wives had burned incense unto other gods, and all the women that stood by, a great multitude, even all the people that dwelt in the land of Egypt, in Pathros, answered Jeremiah, saying, %%% Awo abasajja bonna abaamanya ng'abakazi baabwe bootereza bakatonda abalala obubaane n'abakazi bonna abaali bayimiridde awo, ekibiina ekinene, abantu bonna abaali batuula mu nsi y'e Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti 24JER044.016 As for the word that thou hast spoken unto us in the name of the LORD, we will not hearken unto thee. %%% Ekigambo ky'otubuuliridde mu linnya lya Mukama tetuukuwulire. 24JER044.017 But we will certainly do whatsoever thing goeth forth out of our own mouth, to burn incense unto the queen of heaven, and to pour out drink offerings unto her, as we have done, we, and our fathers, our kings, and our princes, in the cities of Judah, and in the streets of Jerusalem: for then had we plenty of victuals, and were well, and saw no evil. %%% Naye tetulirema kutuukiriza buli kigambo ekyakava mu kamwa kaffe, okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bajjajjaffe, bassekabaka baffe n'abakungu baffe, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi: kubanga lwe twabanga n'eby'okulya ebingi, ne tuba bulungi ne tutalaba bubi. 24JER044.018 But since we left off to burn incense to the queen of heaven, and to pour out drink offerings unto her, we have wanted all things, and have been consumed by the sword and by the famine. %%% Naye kasookedde tulekayo okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tubadde mu kwetaaga n'okumalibwawo ekitala n'enjala. 24JER044.019 And when we burned incense to the queen of heaven, and poured out drink offerings unto her, did we make her cakes to worship her, and pour out drink offerings unto her, without our men? %%% Era bwe twayoterezanga kakabaka w'eggulu omukazi obubaane ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, twamufumbira emigaati okumusinza ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa awatali babbaffe? 24JER044.020 Then Jeremiah said unto all the people, to the men, and to the women, and to all the people which had given him that answer, saying, %%% Awo Yeremiya n'agamba abantu bonna, abasajja n'abakazi, abantu bonna abaali bamuzzeemu bwe batyo, ng'ayogera nti 24JER044.021 The incense that ye burned in the cities of Judah, and in the streets of Jerusalem, ye, and your fathers, your kings, and your princes, and the people of the land, did not the LORD remember them, and came it not into his mind? %%% Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mmwe ne bajjajjammwe, bassekabaka bammwe n'abakungu bammwe, n'abantu ab'omu nsi, Mukama teyabajjukira, so tekyajja mu mwoyo gwe? 24JER044.022 So that the LORD could no longer bear, because of the evil of your doings, and because of the abominations which ye have committed; therefore is your land a desolation, and an astonishment, and a curse, without an inhabitant, as at this day. %%% n'okuyinza Mukama n'atayinza kuzibiikiriza nate olw'obubi obw'ebikolwa byammwe n'olw'emizizo gye mwakola; ensi yammwe kyevudde efuuka amatongo n'ekyewuunyo n'ekikolimo, nga tewali agituulamu, nga bwe kiri leero. 24JER044.023 Because ye have burned incense, and because ye have sinned against the LORD, and have not obeyed the voice of the LORD, nor walked in his law, nor in his statutes, nor in his testimonies; therefore this evil is happened unto you, as at this day. %%% Kubanga mwayoteza obubaane, era kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lya Mukama so temutambulidde mu mateeka ge newakubadde mu biragiro bye newakubadde mu ebyo bye yategeeza; obubi buno kyebuvudde bubatuukako, nga bwe kiri leero. 24JER044.024 Moreover Jeremiah said unto all the people, and to all the women, Hear the word of the LORD, all Judah that are in the land of Egypt: %%% Era nate Yeremiya n'agamba abantu bonna n'abakazi bonna nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri: 24JER044.025 Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel, saying; Ye and your wives have both spoken with your mouths, and fulfilled with your hand, saying, We will surely perform our vows that we have vowed, to burn incense to the queen of heaven, and to pour out drink offerings unto her: ye will surely accomplish your vows, and surely perform your vows. %%% bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mmwe ne bakazi bammwe mwogedde n'obumwa era mukituukirizza n'emikono gyammwe, nga mwogera nti Tetulirema kutuukiriza bweyamo bwaffe bwe tweyama okwoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukiranga ebiweebwayo eby'okunywa: kale munyweze obweyamo bwammwe era mutuukirize obweyamo bwammwe. 24JER044.026 Therefore hear ye the word of the LORD, all Judah that dwell in the land of Egypt; Behold, I have sworn by my great name, saith the LORD, that my name shall no more be named in the mouth of any man of Judah in all the land of Egypt, saying, The Lord GOD liveth. %%% Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda ababeera mu nsi y'e Misiri: laba, ndayidde erinnya lyange ekkulu, bw'ayogera Mukama, ng'erinnya lyange teririyitibwa nate mu kamwa k'omuntu yenna owa Yuda mu nsi yonna ey'e Misiri, ng'ayogera nti Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu. 24JER044.027 Behold, I will watch over them for evil, and not for good: and all the men of Judah that are in the land of Egypt shall be consumed by the sword and by the famine, until there be an end of them. %%% Laba, mbalabirira olw'obubi so si lwa bulungi: n'abasajja bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri balimalibwayo ekitala n'enjala, okutuusa lwe baliggwaawo. 24JER044.028 Yet a small number that escape the sword shall return out of the land of Egypt into the land of Judah, and all the remnant of Judah, that are gone into the land of Egypt to sojourn there, shall know whose words shall stand, mine, or theirs. %%% N'abo abaliwona ekitala balikomawo okuva mu nsi y'e Misiri ne bajja mu nsi ya Yuda, omuwendo gwabwe nga mutono; n'ekitundu kyonna ekya Yuda abagenze mu nsi y'e Misiri okubeera omwo balimanya oyo bw'ali ekigambo kye kye kiriyimirira, ekyange oba ekyabwe. 24JER044.029 And this shall be a sign unto you, saith the LORD, that I will punish you in this place, that ye may know that my words shall surely stand against you for evil: %%% Era kano ke kanaaba akabonero gye muli, bw'ayogera Mukama, nga ndibabonereza mu kifo kino, mulyoke mumanye ng'ebigambo byange tebirirema kuyimirira gye muli olw'obubi: 24JER044.030 Thus saith the LORD; Behold, I will give Pharaohhophra king of Egypt into the hand of his enemies, and into the hand of them that seek his life; as I gave Zedekiah king of Judah into the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon, his enemy, and that sought his life. %%% bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo Falaawo Kofera kabaka w'e Misiri mu mukono gw'abalabe be ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwe; nga bwe nnawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni omulabe we era eyanoonya obulamu bwe. 24JER045.001 The word that Jeremiah the prophet spake unto Baruch the son of Neriah, when he had written these words in a book at the mouth of Jeremiah, in the fourth year of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah, saying, %%% Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya bwe yawandiika ebigambo bino mu kitabo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti 24JER045.002 Thus saith the LORD, the God of Israel, unto thee, O Baruch: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, eri ggwe, ai Baluki, nti 24JER045.003 Thou didst say, Woe is me now! for the LORD hath added grief to my sorrow; I fainted in my sighing, and I find no rest. %%% Wayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna. 24JER045.004 Thus shalt thou say unto him, The LORD saith thus; Behold, that which I have built will I break down, and that which I have planted I will pluck up, even this whole land. %%% Bw'oti bw'oba omugamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n'ekyo kge nnasimba ndikisimbula; era ndikola bwe ntyo mu nsi yonna. 24JER045.005 And seekest thou great things for thyself? seek them not: for, behold, I will bring evil upon all flesh, saith the LORD: but thy life will I give unto thee for a prey in all places whither thou goest. %%% Era weenoonyeza ebikulu? tobinoonya: kubanga, laba, ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, bw'ayogera Mukama: naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy'onoogendanga. 24JER046.001 The word of the LORD which came to Jeremiah the prophet against the Gentiles; %%% Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi ku mawanga. 24JER046.002 Against Egypt, against the army of Pharaohnecho king of Egypt, which was by the river Euphrates in Carchemish, which Nebuchadrezzar king of Babylon smote in the fourth year of Jehoiakim the son of Josiah king of Judah. %%% Ku Misiri: eby'eggye lya Falaawoneko kabaka w’e Misiri eryali ku lubalama lw'omugga Fulaati e Kalukemisi, Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda. 24JER046.003 Order ye the buckler and shield, and draw near to battle. %%% Muteeketeeke akagabo n'engabo, musembere okulwana. 24JER046.004 Harness the horses; and get up, ye horsemen, and stand forth with your helmets; furbish the spears, and put on the brigandines. %%% Muteeke amatandiiko ku mbalaasi, mulinnye, mmwe abeebagala embalaasi, muyimirire mu maaso nga mulina enkuufiira zammwe ez'ebyuma; muzigule amafumu, mwambale ebizibawo eby'ebyuma. 24JER046.005 Wherefore have I seen them dismayed and turned away back? and their mighty ones are beaten down, and are fled apace, and look not back: for fear was round about, saith the LORD. %%% Nkirabidde ki? bakeŋŋentereddwa, bazze ennyuma; n'abasajja baabwe ab'amaanyi basuuliddwa wansi, era badduse mbiro, so tebatunula nnyuma: entiisa eri ku njuyi zonna, bw'ayogera Mukama. 24JER046.006 Let not the swift flee away, nor the mighty man escape; they shall stumble, and fall toward the north by the river Euphrates. %%% Ab'embiro baleme okudduka so n'omusajja ow'amaanyi aleme okuwona; obukiika obwa kkono ku lubalama lw'omugga Fulaati beesittadde bagudde. 24JER046.007 Who is this that cometh up as a flood, whose waters are moved as the rivers? %%% Ani ono agolokose nga Kiyira, amazzi ge geesuukunda ng'emigga? 24JER046.008 Egypt riseth up like a flood, and his waters are moved like the rivers; and he saith, I will go up, and will cover the earth; I will destroy the city and the inhabitants thereof. %%% Misiri yagolokoka nga Kiyira, n'amazzi ge geesuukunda ng'emigga: naayogera nti Naagolokoka, naabikka ku nsi zonna; ndizikiriza ekibuga n'abo abakituulamu. 24JER046.009 Come up, ye horses; and rage, ye chariots; and let the mighty men come forth; the Ethiopians and the Libyans, that handle the shield; and the Lydians, that handle and bend the bow. %%% Mwambuke, mmwe embalaasi; mulaluke, mmwe amagaali; n'abasajja ab'amaanyi bafulume: Kuusi ne Puti abakwata engabo; n'Abaluudi abakwata abanaanuula omutego. 24JER046.010 For this is the day of the Lord GOD of hosts, a day of vengeance, that he may avenge him of his adversaries: and the sword shall devour, and it shall be satiate and made drunk with their blood: for the Lord GOD of hosts hath a sacrifice in the north country by the river Euphrates. %%% Kubanga olunaku olwo lunaku lwa Mukama, Mukama w'eggye, olunaku olw'okuwalanirako eggwanga awalane eggwanga ku balabe be: n’ekitala kirirya ne kikkuta, era kirinywa ku musaayi gwabwe ne kikkuta: kubanga Mukama, Mukama w’eggye, alina ssaddaaka gy'asalira mu nsi ey'obukiika obwa kkono ku lubalama lw'omugga Fulaati. 24JER046.011 Go up into Gilead, and take balm, O virgin, the daughter of Egypt: in vain shalt thou use many medicines; for thou shalt not be cured. %%% Yambuka e Gireyaadi, oddire eddagala, ggwe omuwala wa Misiri atamanyi musajja: onywera bwereere eddagala ery'engeri ennyingi; tewali kuwona eri ggwe. 24JER046.012 The nations have heard of thy shame, and thy cry hath filled the land: for the mighty man hath stumbled against the mighty, and they are fallen both together. %%% Amawanga gawulidde okuwemuka kwo, n'ensi ejjudde okukaaba kwo: kubanga omusajja ow'amaanyi yeesittadde ku w'amaanyi, bagwiridde wamu bombi. 24JER046.013 The word that the LORD spake to Jeremiah the prophet, how Nebuchadrezzar king of Babylon should come and smite the land of Egypt. %%% Ekigambo Mukama kye yagamba Yeremiya nnabbi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bw'agenda okujja n'akuba ensi y'e Misiri. 24JER046.014 Declare ye in Egypt, and publish in Migdol, and publish in Noph and in Tahpanhes: say ye, Stand fast, and prepare thee; for the sword shall devour round about thee. %%% Mubuulire mu Misiri, mulangire mu Migudooli, era mulangire mu Noofu ne Tapanesi: mwogere nti Fuluma oyimirire, weeteeketeeke; kubanga ekitala kiridde okwetooloola enjuyi zonna. 24JER046.015 Why are thy valiant men swept away? they stood not, because the LORD did drive them. %%% Ababo ab'amaanyi kiki ekibatwaza olw'amaanyi? tebaayimirira, kubanga Mukama ye yabagoba. 24JER046.016 He made many to fall, yea, one fell upon another: and they said, Arise, and let us go again to our own people, and to the land of our nativity, from the oppressing sword. %%% Yabeesittaza bangi, weewaawo, baagwaŋŋanako: ne boogera nti Golokoka tuddeyo eri abantu ab'ewaffe ne mu nsi gye twazaalirwamu okuva eri ekitala ekijooga. 24JER046.017 They did cry there, Pharaoh king of Egypt is but a noise; he hath passed the time appointed. %%% Baayogerera eyo nti Falaawo kabaka w'e Misiri luyoogaano buyoogaano; asobezza entuuko ezaalagirwa. 24JER046.018 As I live, saith the King, whose name is the LORD of hosts, Surely as Tabor is among the mountains, and as Carmel by the sea, so shall he come. %%% Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye, mazima nga Taboli mu nsozi era nga Kalumeeri ku lubalama lw'ennyanja, bw'alijja bw'atyo. 24JER046.019 O thou daughter dwelling in Egypt, furnish thyself to go into captivity: for Noph shall be waste and desolate without an inhabitant. %%% Ai omuwala abeera mu Misiri, weesibirire okugenda mu busibe: kubanga Noofu kirifuuka matongo, era kiryokebwa obutabaamu abeeramu. 24JER046.020 Egypt is like a very fair heifer, but destruction cometh; it cometh out of the north. %%% Misiri nte nduusi nnungi nnyo; naye okuzikirira okuvudde mu bukiika obwa kkono kutuuse, kutuuse. 24JER046.021 Also her hired men are in the midst of her like fatted bullocks; for they also are turned back, and are fled away together: they did not stand, because the day of their calamity was come upon them, and the time of their visitation. %%% N'abasajja be b'agulirira abali wakati we bali ng'ennyana ez'omu kisibo; kubanga nabo bazze ennyuma, baddukidde wamu, tebaayimirira: kubanga olunaku olw'okulabiramu obuyinike bwabwe lubatuuseeko, ebiro eby'okujjirwa kwabwe. 24JER046.022 The voice thereof shall go like a serpent; for they shall march with an army, and come against her with axes, as hewers of wood. %%% Eddoboozi lyakwo liritambula ng'omusota; kubanga balitambula nga balina eggye, ne bamutabaala nga balina embazzi, ng'abatema emiti. 24JER046.023 They shall cut down her forest, saith the LORD, though it cannot be searched; because they are more than the grasshoppers, and are innumerable. %%% Balitema ekibira kye, bw'ayogera Mukama, newakubadde nga tekinoonyezeka; kubanga basinga enzige obungi, so tebabalika. 24JER046.024 The daughter of Egypt shall be confounded; she shall be delivered into the hand of the people of the north. %%% Omuwala wa Misiri alikwatibwa ensonyi; aliweewayo mu mukono gw'abantu ab'obukiika obwa kkono. 24JER046.025 The LORD of hosts, the God of Israel, saith; Behold, I will punish the multitude of No, and Pharaoh, and Egypt, with their gods, and their kings; even Pharaoh, and all them that trust in him: %%% Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ayogera nti Laba, ndibonereza Amoni w'e No, ne Falaawo, ne Misiri ne bakatonda be ne bakabaka be; Falaawo n'abo abamwesiga: 24JER046.026 And I will deliver them into the hand of those that seek their lives, and into the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon, and into the hand of his servants: and afterward it shall be inhabited, as in the days of old, saith the LORD. %%% era dibagabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni, ne mu mukono gw'abaddu be: kale oluvannyuma erituulwamu nga mu naku ez'edda, bw'ayogera Mukama. 24JER046.027 But fear not thou, O my servant Jacob, and be not dismayed, O Israel: for, behold, I will save thee from afar off, and thy seed from the land of their captivity; and Jacob shall return, and be in rest and at ease, and none shall make him afraid. %%% Naye totya ggwe, Yakobo omuddu wange, so tokeŋŋentererwa, ggwe Isirarei: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n'ezzadde lyo nga nnyima mu nsi y'obusibe bwabwe; kale Yakobo alikomawo, era alitereera era alyessa, so tewaliba alimutiisa. 24JER046.028 Fear thou not, O Jacob my servant, saith the LORD: for I am with thee; for I will make a full end of all the nations whither I have driven thee: but I will not make a full end of thee, but correct thee in measure; yet will I not leave thee wholly unpunished. %%% Totya gwe, ai Yakobo omuddu wange, bw’ayogera Mukama; kubanga nze ndi wamu naawe: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakugobera, naye ggwe sirikumalirawo ddala; naye ndikukangavvula mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa. 24JER047.001 The word of the LORD that came to Jeremiah the prophet against the Philistines, before that Pharaoh smote Gaza. %%% Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi eky'Abafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza. 24JER047.002 Thus saith the LORD; Behold, waters rise up out of the north, and shall be an overflowing flood, and shall overflow the land, and all that is therein; the city, and them that dwell therein: then the men shall cry, and all the inhabitants of the land shall howl. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, amazzi gatumbiira agava obukiika obwa kkono, era galifuuka omugga ogwanjaala, era galyanjaala mu nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu: n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi baliwowoggana. 24JER047.003 At the noise of the stamping of the hoofs of his strong horses, at the rushing of his chariots, and at the rumbling of his wheels, the fathers shall not look back to their children for feebleness of hands; %%% Olw'emisinde gy'okusamba kw'ebinuulo by'ensolo ze ez'amaanyi, olw'okuwuluuka kw'amagaali ge, olw'okuvuuma okwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebava balema okutunula ennyuma eri abaana baabwe, emikono gyabwe lw'okuba eminafu; 24JER047.004 Because of the day that cometh to spoil all the Philistines, and to cut off from Tyrus and Zidon every helper that remaineth: for the LORD will spoil the Philistines, the remnant of the country of Caphtor. %%% olw'olunaku lujja okunyaga Abafirisuuti, okumalawo ku Ttuulo ne Sidoni buli mubeezi asigaddewo: kubanga Mukama alinyaga Abafirisuuti, ekitundu ekifisseewo eky'ekizinga Kafutoli. 24JER047.005 Baldness is come upon Gaza; Ashkelon is cut off with the remnant of their valley: how long wilt thou cut thyself? %%% Gaza aliko ekiwalaata; Asukulooni amaliddwawo, ekitundu ekifisseewo ku kiwonvu kyabwe: olituusa wa okwesala? 24JER047.006 O thou sword of the LORD, how long will it be ere thou be quiet? put up thyself into thy scabbard, rest, and be still. %%% Ai ggwe ekitala kya Mukama, olituusa wa obutatereera? weeteke mu kiraato kyo; wummula osirike. 24JER047.007 How can it be quiet, seeing the LORD hath given it a charge against Ashkelon, and against the sea shore? there hath he appointed it. %%% Oyinza otya okutereera, kubanga Mukama aliko ky'akukuutidde? akiragidde okulwana ne Asukulooni n'ettale ly'ennyanja. 24JER048.001 Against Moab thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Woe unto Nebo! for it is spoiled: Kiriathaim is confounded and taken: Misgab is confounded and dismayed. %%% Ebya Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Zisanze Nebo! kubanga bakizisizza; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa: Misugabu kikwasibbwa ensonyi, kisuuliddwa. 24JER048.002 There shall be no more praise of Moab: in Heshbon they have devised evil against it; come, and let us cut it off from being a nation. Also thou shalt be cut down, O Madmen; the sword shall pursue thee. %%% Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo; bakiteeserezza obubi mu Kesubooni, nti Mujje tukimalewo obutaba ggwanga. Era naawe, si Madumeni, olisirisibwa; ekitala kirikucocca. 24JER048.003 A voice of crying shall be from Horonaim, spoiling and great destruction. %%% Eddoboozi ery'okuleekaana eriva e Kolonayimu, okunyaga n'okuzikiriza okunene! 24JER048.004 Moab is destroyed; her little ones have caused a cry to be heard. %%% Mowaabu azikiridde; abaana baamu abato bawulizizza okukaaba. 24JER048.005 For in the going up of Luhith continual weeping shall go up; for in the going down of Horonaim the enemies have heard a cry of destruction. %%% Kubanga balyambukira awalinnyirwa e Lulusi nga bakaaba amaziga agatata; awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde obuyinike obw’okukaaba olw’okuzikirira. 24JER048.006 Flee, save your lives, and be like the heath in the wilderness. %%% Mudduke muwonye obulamu bwammwe, mufaanane omwoloola oguli mu ddungu. 24JER048.007 For because thou hast trusted in thy works and in thy treasures, thou shalt also be taken: and Chemosh shall go forth into captivity with his priests and his princes together. %%% Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, era naawe olikwatibwa: ne Kemosi alivaayo aligenda mu busibe, bakabona be n'abakungu be wamu. 24JER048.008 And the spoiler shall come upon every city, and no city shall escape: the valley also shall perish, and the plain shall be destroyed, as the LORD hath spoken. %%% N'omunyazi alituuka ku buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era n'ekiwonvu kiribula, n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera. 24JER048.009 Give wings unto Moab, that it may flee and get away: for the cities thereof shall be desolate, without any to dwell therein. %%% Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke yeegendere: n'ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali wa kutuulamu. 24JER048.010 Cursed be he that doeth the work of the LORD deceitfully, and cursed be he that keepeth back his sword from blood. %%% Akolimiddwa oyo akola omulimu gwa Mukama ng'atenguwa, era akolimiddwa oyo aziyiza ekitala kye mu musaayi. 24JER048.011 Moab hath been at ease from his youth, and he hath settled on his lees, and hath not been emptied from vessel to vessel, neither hath he gone into captivity: therefore his taste remained in him, and his scent is not changed. %%% Mowaabu yessizza okuva mu buto bwe, era teyeesengezze ebbonda lye, tattululirwanga mu bita so tagendanga mu busibe: ensa ye kyeva ebeera mu ye, n'akawoowo ke tekajjulukukanga. 24JER048.012 Therefore, behold, the days come, saith the LORD, that I will send unto him wanderers, that shall cause him to wander, and shall empty his vessels, and break their bottles. %%% Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndimutumira abo abattulula, kale balimuttulula; era balimalamu ebintu bye, ne bamenyaamenya ensuwa zaabwe. 24JER048.013 And Moab shall be ashamed of Chemosh, as the house of Israel was ashamed of Bethel their confidence. %%% Kale Mowaabu alikwatirwa Kemosi ensonyi, ng'ennyumba ya Isiraeri bwe baakwatirwa ensonyi Beseri, obwesige bwabwe. 24JER048.014 How say ye, We are mighty and strong men for the war? %%% Mwogera mutya nti Tuli basajja ba maanyi era basajja bazira okutwana? 24JER048.015 Moab is spoiled, and gone up out of her cities, and his chosen young men are gone down to the slaughter, saith the King, whose name is the LORD of hosts. %%% Mowaabu bamuzisizza, era batabadde ebibuga byayo, n'abalenzi baayo abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye. 24JER048.016 The calamity of Moab is near to come, and his affliction hasteth fast. %%% Obuyinike bwa Mowaabu bunaatera okutuuka, n'ennaku ze zanguwa mangu. 24JER048.017 All ye that are about him, bemoan him; and all ye that know his name, say, How is the strong staff broken, and the beautiful rod! %%% Mmwe mwenna abamwetoolodde mumukungubagire, nammwe mwenna abamanyi erinnya lye; mwogere nti omuggo ogw'amaanyi nga gumenyese, oluga olulungi! 24JER048.018 Thou daughter that dost inhabit Dibon, come down from thy glory, and sit in thirst; for the spoiler of Moab shall come upon thee, and he shall destroy thy strong holds. %%% Ai ggwe omuwala, atuula mu Diboni, serengeta ove ku kitiibwa kyo, otuule ng'olumiddwa ennyonta; kubanga omunyazi wa Mowaabu akutabadde, azikirizza ebigo byo. 24JER048.019 O inhabitant of Aroer, stand by the way, and espy; ask him that fleeth, and her that escapeth, and say, What is done? %%% Ai ggwe atuula mu Aloweri, yimirira ku mabbali g'ekkubo okette: buuza omusajja adduka, n'omukazi awona; oyogere nti Ebifaayo? 24JER048.020 Moab is confounded; for it is broken down: howl and cry; tell ye it in Arnon, that Moab is spoiled, %%% Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese: wowoggana okaabe; mukibuulire mu Alunoni nga Mowaabu bakizisizza. 24JER048.021 And judgment is come upon the plain country; upon Holon, and upon Jahazah, and upon Mephaath, %%% N'omusango gutuuse ku nsi ey'ensenyi; ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi; 24JER048.022 And upon Dibon, and upon Nebo, and upon Bethdiblathaim, %%% ne ku Diboni ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu; 24JER048.023 And upon Kiriathaim, and upon Bethgamul, and upon Bethmeon, %%% ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne Besumyoni; 24JER048.024 And upon Kerioth, and upon Bozrah, and upon all the cities of the land of Moab, far or near. %%% ne ku Keriyoosi ne ku Bozula ne ku bibuga byonna eby'omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n'ebiri okumpi. 24JER048.025 The horn of Moab is cut off, and his arm is broken, saith the LORD. %%% Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako, n'omukono gwe gumenyese, bw'ayogera Mukama. 24JER048.026 Make ye him drunken: for he magnified himself against the LORD: Moab also shall wallow in his vomit, and he also shall be in derision. %%% Mumutamiize; kubanga yeegulumizanga eri Mukama: ne Mowaabu alyekulukuunya mu bisesemye bye, era naye alisekererwa. 24JER048.027 For was not Israel a derision unto thee? was he found among thieves? for since thou spakest of him, thou skippedst for joy. %%% Kubanga Isiraeri teyali wa kusekererwa gy'oli? yalabika mu babbi? kubanga buli lw'omwogerako onyeenya omutwe gwo. 24JER048.028 O ye that dwell in Moab, leave the cities, and dwell in the rock, and be like the dove that maketh her nest in the sides of the hole's mouth. %%% Ai mmwe abatuula mu Mowaabu, muleke ebibuga mutuule mu mayinja; mufaanane kaamukuukulu akakola ekisu kye mu mbiriizi z'akamwa k'obunnya. 24JER048.029 We have heard the pride of Moab, (he is exceeding proud) his loftiness, and his arrogancy, and his pride, and the haughtiness of his heart. %%% Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe. 24JER048.030 I know his wrath, saith the LORD; but it shall not be so; his lies shall not so effect it. %%% Mmanyi obusungu bwe, bw'ayogera Mukama, nga si kintu; okwenyumiriza kwe tekuliiko kye kukoze. 24JER048.031 Therefore will I howl for Moab, and I will cry out for all Moab; mine heart shall mourn for the men of Kirheres. %%% Kyennaava mpowogganira Mowaabu; weewaawo, naaleekaanira Mowaabu yenna: abasajja ab'e Kirukeresi be baiinnakuwalira. 24JER048.032 O vine of Sibmah, I will weep for thee with the weeping of Jazer: thy plants are gone over the sea, they reach even to the sea of Jazer: the spoiler is fallen upon thy summer fruits and upon thy vintage. %%% Naakukaabira ggwe amaziga, ai omuzabbibu ogw'e Sibuma, nga nkira okukaaba kwa Yazeri: amatabi go gaayita ku nnyanja, gaatuuka ne ku nnyanja ya Yazeri: omunyazi agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa bye. 24JER048.033 And joy and gladness is taken from the plentiful field, and from the land of Moab; and I have caused wine to fail from the winepresses: none shall tread with shouting; their shouting shall be no shouting. %%% N'essanyu n'okujaguza biggiddwa ku nnimiro eŋŋimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero: tewaliba alisamba ng'aleekaana; okuleekaana kuliba nga si kuleekaana. 24JER048.034 From the cry of Heshbon even unto Elealeh, and even unto Jahaz, have they uttered their voice, from Zoar even unto Horonaim, as an heifer of three years old: for the waters also of Nimrim shall be desolate. %%% Okuva ku kuleekaana kwa Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n'okutuuka ku Yakazi, baleese eddoboozi lyabwe, okuva ku Zowaali okutuuka ku Kolonayimu, okutuuka ku Egulasuserisiya: kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago galirekebwawo. 24JER048.035 Moreover I will cause to cease in Moab, saith the LORD, him that offereth in the high places, and him that burneth incense to his gods. %%% Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane. 24JER048.036 Therefore mine heart shall sound for Moab like pipes, and mine heart shall sound like pipes for the men of Kirheres: because the riches that he hath gotten are perished. %%% Omutima gwange kyeguva guvugira Mowaabu ng'emirere abasajja ab'e Kirukeresi: ebintu ebingi bye yafuna kyebivudde bizikirira. 24JER048.037 For every head shall be bald, and every beard clipped: upon all the hands shall be cuttings, and upon the loins sackcloth. %%% Kubanga buli mutwe guliko ekiwalaata, na buli kirevu kisaliddwa: ku mikono gyonna kuliko ebisale, ne mu biwato mulimu ebibukutu. 24JER048.038 There shall be lamentation generally upon all the housetops of Moab, and in the streets thereof: for I have broken Moab like a vessel wherein is no pleasure, saith the LORD. %%% Ku nnyumba zonna eza Mowaabu waggulu ne mu nguudo zaayo wonna wonna waliwo okukungubaga: kubanga mmenye Mowaabu ng'ekibya ekitasanyusa, bw'ayogera Mukama. 24JER048.039 They shall howl, saying, How is it broken down! how hath Moab turned the back with shame! so shall Moab be a derision and a dismaying to all them about him. %%% Nga kisuuliddwa! nga bawowoggana! Mowaabu ng'akyusizza enkoona n'ensonyi! kale Mowaabu alifuuka wa kusekererwa era wa kukeŋŋenterera eri abo bonna abamwetoolodde. 24JER048.040 For thus saith the LORD; Behold, he shall fly as an eagle, and shall spread his wings over Moab. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, alibuuka ng'empungu, era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu. 24JER048.041 Kerioth is taken, and the strong holds are surprised, and the mighty men's hearts in Moab at that day shall be as the heart of a woman in her pangs. %%% Keriyoosi kimenyeddwa, n'ebigo babisonookerezza, n'omutima gw'abasajja ab'amaanyi aba Mowaabu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi bw'alumwa okuzaala. 24JER048.042 And Moab shall be destroyed from being a people, because he hath magnified himself against the LORD. %%% Era Mowaabu alizikirizibwa obutaba ggwanga, kubanga yeegulumizizza eri Mukama. 24JER048.043 Fear, and the pit, and the snare, shall be upon thee, O inhabitant of Moab, saith the LORD. %%% Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe, ai ggwe atuula mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama. 24JER048.044 He that fleeth from the fear shall fall into the pit; and he that getteth up out of the pit shall be taken in the snare: for I will bring upon it, even upon Moab, the year of their visitation, saith the LORD. %%% Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika: kubanga ndireeta ku ye, ku Mowaabu, omwaka ogw'okujjirwa kwabwe, bw'ayogera Mukama. 24JER048.045 They that fled stood under the shadow of Heshbon because of the force: but a fire shall come forth out of Heshbon, and a flame from the midst of Sihon, and shall devour the corner of Moab, and the crown of the head of the tumultuous ones. %%% Abadduka bayimirira nga tebalina maanyi wansi w'ekisiikirize kya Kesubooni: kubanga omuliro guvudde mu Kesubooni, n'ennimi z'omuliro zivudde wakati mu Sikoni, era gwokezza ensonda ya Mowaabu, n'obwezinge bw'abo abayoogaana. 24JER048.046 Woe be unto thee, O Moab! the people of Chemosh perisheth: for thy sons are taken captives, and thy daughters captives. %%% Zikusanze ggwe, Mowaabu abantu ba Kemosi babuze: kubanga batabani bo batwalibbwa nga basibe ne bawala bo batwalibbwa mu busibe. 24JER048.047 Yet will I bring again the captivity of Moab in the latter days, saith the LORD. Thus far is the judgment of Moab. %%% Naye ndikomyawo obusibe bwa Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu we gukoma wano. 24JER049.001 Concerning the Ammonites, thus saith the LORD; Hath Israel no sons? hath he no heir? why then doth their king inherit Gad, and his people dwell in his cities? %%% Eby'abaana ba Amoni. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri talina baana ba bulenzi? talina musika? kale Malukamu kiki ekimuliisizza Gaadi, n'abantu be batuula mu bibuga byayo? 24JER049.002 Therefore, behold, the days come, saith the LORD, that I will cause an alarm of war to be heard in Rabbah of the Ammonites; and it shall be a desolate heap, and her daughters shall be burned with fire: then shall Israel be heir unto them that were his heirs, saith the LORD. %%% Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiwuliza eŋŋoma nga bazirayiza Labba eky'abaana ba Amoni; era kirifuuka kifunvu ekyalekebwawo, ne bawala baamu balyokebwa omuliro: kale Isirareri lw'alirya abo abaamulyanga, bw'ayogera Mukama. 24JER049.003 Howl, O Heshbon, for Ai is spoiled: cry, ye daughters of Rabbah, gird you with sackcloth; lament, and run to and fro by the hedges; for their king shall go into captivity, and his priests and his princes together. %%% Wowoggana, ggwe Kesubootu, kubanga Ayi kinyagiddwa; mukaabe, mmwe abawala ba Labba, mwesibe ebibukutu, mukungubage, mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate; kubanga Malukamu aligenda mu busibe, bakabona be n'abakungu be wamu. 24JER049.004 Wherefore gloriest thou in the valleys, thy flowing valley, O backsliding daughter? that trusted in her treasures, saying, Who shall come unto me? %%% Lwaki ggwe okwenyumiririza ebiwonvu, ekiwonvu kyo ekikulukuta, ai omuwala adda ennyuma? eyeesiganga eby'obugagga bwo ng'ayogera nti Ani alijja gye ndi? 24JER049.005 Behold, I will bring a fear upon thee, saith the Lord GOD of hosts, from all those that be about thee; and ye shall be driven out every man right forth; and none shall gather up him that wandereth. %%% Laba, ndikuleetako entiisa, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye okuva eri abo bonna abakwetoolodde; era muligobebwamu buli muntu okuviiramu ddala, so tewaliba wa kuluŋŋamya oyo awaba. 24JER049.006 And afterward I will bring again the captivity of the children of Ammon, saith the LORD. %%% Naye oluvannyuma ndikomyawo obusibe bw'abaana ba Amoni, bw'ayogera Mukama. 24JER049.007 Concerning Edom, thus saith the LORD of hosts; Is wisdom no more in Teman? is counsel perished from the prudent? is their wisdom vanished? %%% Ebya Edomu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Amagezi tegakyali mu Temani? okuteesa kubuze abakabakaba? amagezi gaabwe gagenze? 24JER049.008 Flee ye, turn back, dwell deep, O inhabitants of Dedan; for I will bring the calamity of Esau upon him, the time that I will visit him. %%% Mudduke mukyuke okudda ennyuma, mwekise wansi, mmwe abatuula mu Dedani; kubanga ndimuleetako obuyinike bwa Esawu, ebiro lwe ndimujjira. 24JER049.009 If grapegatherers come to thee, would they not leave some gleaning grapes? if thieves by night, they will destroy till they have enough. %%% Abanozi b'ezabbibu singa bazze gy'oli, tebandirese zabbibu ezimu ez'okwerebwa? ababbi singa bazze kiro, tebandizikirizza okutuusa lwe bandikkuse? 24JER049.010 But I have made Esau bare, I have uncovered his secret places, and he shall not be able to hide himself: his seed is spoiled, and his brethren, and his neighbours, and he is not. %%% Naye nze mmwambudde Esawu, mbikkudde ku bifo bye eby'ekyama, so taliyinza kwekweka: ezzadde lyo linyagiddwa ne baganda be ne baliraanwa be, so ye taliiwo. 24JER049.011 Leave thy fatherless children, I will preserve them alive; and let thy widows trust in me. %%% Leka abaana bo abatalina kitaabwe, nze ndibakuuma okuba abalamu; ne bannamwandu bo banneesige nze. 24JER049.012 For thus saith the LORD; Behold, they whose judgment was not to drink of the cup have assuredly drunken; and art thou he that shall altogether go unpunished? thou shalt not go unpunished, but thou shalt surely drink of it. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, abo abaali batagwanidde kunywa ku kikompe tebalirema kunywa; naawe ggwe wuuyo aliwonera ddala okubonerezebwa toliwona obutabonerezebwa, naye tolirema kunywa. 24JER049.013 For I have sworn by myself, saith the LORD, that Bozrah shall become a desolation, a reproach, a waste, and a curse; and all the cities thereof shall be perpetual wastes. %%% Kubanga nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, nga Bozula kirifuuka kyewuunyo n'ekivume n'amatongo n'ekikolimo; n'ebibuga byayo byonna binaabanga matongo agataliggwaawo. 24JER049.014 I have heard a rumour from the LORD, and an ambassador is sent unto the heathen, saying, Gather ye together, and come against her, and rise up to the battle. %%% Mpulidde ebigambo ebivudde eri Mukama, n'omubaka atumiddwa mu mawanga, ng'ayogera nti Mwekuŋŋaanye mukitabaale mugolokoke mulwane. 24JER049.015 For, lo, I will make thee small among the heathen, and despised among men. %%% Kubanga, laba, nkufudde mutono mu mawanga, era anyoomebwa mu bantu. 24JER049.016 Thy terribleness hath deceived thee, and the pride of thine heart, O thou that dwellest in the clefts of the rock, that holdest the height of the hill: though thou shouldest make thy nest as high as the eagle, I will bring thee down from thence, saith the LORD. %%% Eby'okutiisa kwo, amalala ag'omu mutima gwo gakulimbye, ai ggwe atuula mu njatika ez'omu lwazi, eyeekwata entikko y'olusozi: ne bw'onoozimba ekisu kyo awagulumivu, okwenkana n'empungu, era ndikukkakkanya nga nkuggyayo, bw'ayogera Mukama. 24JER049.017 Also Edom shall be a desolation: every one that goeth by it shall be astonished, and shall hiss at all the plagues thereof. %%% Kale Edomu alifuuka kyewuunyo: buli anaayitangawo aneewuunyanga era anaasoozanga ebibonobono byonna ebyayo. 24JER049.018 As in the overthrow of Sodom and Gomorrah and the neighbour cities thereof, saith the LORD, no man shall abide there, neither shall a son of man dwell in it. %%% Nga Sodomu ne Ggomola bwe byasuulibwa n'ebibuga ebyaliraanawo, bw'ayogera Mukama, tewali muntu alibeera eyo, so tewaliba mwana wa muntu alituula omwo. 24JER049.019 Behold, he shall come up like a lion from the swelling of Jordan against the habitation of the strong: but I will suddenly make him run away from her: and who is a chosen man, that I may appoint over her? for who is like me? and who will appoint me the time? and who is that shepherd that will stand before me? %%% Laba, alyambuka ng'empologoma eva mu malala ga Yoludaani okulumba ekifo eky'okubeeramu eky'amaanyi; naye ndikimuddusa mangu ago; era buli alirondebwa oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze? era ani ananteekerawo ekiseera? era omusumba aluwa anaayimirira mu maaso gange? 24JER049.020 Therefore hear the counsel of the LORD, that he hath taken against Edom; and his purposes, that he hath purposed against the inhabitants of Teman: Surely the least of the flock shall draw them out: surely he shall make their habitations desolate with them. %%% Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde eri abo abatuula mu Temani: mazima balibakulula, era n'abaana abato ab'omu kisibo mazima alizisa ekifo kye babeeramu wamu nabo. 24JER049.021 The earth is moved at the noise of their fall, at the cry the noise thereof was heard in the Red sea. %%% Ensi ekankana olw'eddoboozi ery'okugwa kwabwe; waliwo okuleekaana, eddoboozi lyakwo ne liwulirwa mu Nnyanja Emmyufu. 24JER049.022 Behold, he shall come up and fly as the eagle, and spread his wings over Bozrah: and at that day shall the heart of the mighty men of Edom be as the heart of a woman in her pangs. %%% Laba, alirinnya n'abuuka ng'empungu n'ayanjuluza ebiwaawaatiro bye okulwanyisa Bozula: n'omutima gw'abasajja ab'amaanyi aba Edomu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala. 24JER049.023 Concerning Damascus. Hamath is confounded, and Arpad: for they have heard evil tidings: they are fainthearted; there is sorrow on the sea; it cannot be quiet. %%% Eby'e Ddamasiko. Kamasi kwatiddwa ensonyi ne Alupadi; kubanga bawulidde ebigambo ebibi, basaanuuse: ku nnyanja kuliko obuyinike; teyinza kuteeka. 24JER049.024 Damascus is waxed feeble, and turneth herself to flee, and fear hath seized on her: anguish and sorrows have taken her, as a woman in travail. %%% Ddamasiko ayongobedde, akyuka okudduka, n'okukankana kumukutte: obubalagaze n'obuyinike bimunywezezza ng'omukazi alumwa okuzaala. 24JER049.025 How is the city of praise not left, the city of my joy! %%% Ekibuga eky'okutendereza kiki ekirobedde okukirekayo, ekibuga eky'essanyu lyange? 24JER049.026 Therefore her young men shall fall in her streets, and all the men of war shall be cut off in that day, saith the LORD of hosts. %%% Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, n'abasajja bonna abalwanyi balisirisibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye. 24JER049.027 And I will kindle a fire in the wall of Damascus, and it shall consume the palaces of Benhadad. %%% Era ndikuma omuliro mu bbugwe w’e Ddamasiko, era gulyoka amayumba ga Benukadaadi. 24JER049.028 Concerning Kedar, and concerning the kingdoms of Hazor, which Nebuchadrezzar king of Babylon shall smite, thus saith the LORD; Arise ye, go up to Kedar, and spoil the men of the east. %%% Ebya Kedali n'eby'obwakabaka bwa Kazoli Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bwe yakuba. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mugolokoke mwambuke e Kedali, munyage abaana ab'ebuvanjuba. 24JER049.029 Their tents and their flocks shall they take away: they shall take to themselves their curtains, and all their vessels, and their camels; and they shall cry unto them, Fear is on every side. %%% Eweema zaabwe n'embuzi zaabwe balizitwala; balyetwalira bo bennyini amagigi gaabwe n'ebintu byabwe byonna n'eŋŋamira zaabwe: era balibalangira nti Entiisa eri ku njuyi zonna. 24JER049.030 Flee, get you far off, dwell deep, O ye inhabitants of Hazor, saith the LORD; for Nebuchadrezzar king of Babylon hath taken counsel against you, and hath conceived a purpose against you. %%% Mudduke mutambuletambule wala mwekweke wansi, mmwe ababeera e Kazoli, bw'ayogera Mukama; kubanga Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni abateeserezza ebigambo, era abasalidde amagezi. 24JER049.031 Arise, get you up unto the wealthy nation, that dwelleth without care, saith the LORD, which have neither gates nor bars, which dwell alone. %%% Mugolokoke mwambuke eri eggwanga eryegolola, eribeerera awo nga lisiita, bw'ayogera Mukama; abatalina nzigi newakubadde ebisiba, abatuula bokka. 24JER049.032 And their camels shall be a booty, and the multitude of their cattle a spoil: and I will scatter into all winds them that are in the utmost corners; and I will bring their calamity from all sides thereof, saith the LORD. %%% N'eŋŋamira zaabwe ziriba munyago, n'olufulube lw'ensolo zaabwe luliba lwa kugereka: era ndisaasaanyiza awali empewo zonna abo abamwa oluge; era ndireeta obuyinike bwabwe okubafuluma enjuyi zonna, bw'ayogera Mukama. 24JER049.033 And Hazor shall be a dwelling for dragons, and a desolation for ever: there shall no man abide there, nor any son of man dwell in it. %%% Era Kazoli kinaabanga kifo kya bibe eky'okubeerangamu, matongo ag'olubeerera: tewaabenga muntu alibeera eyo, so tewaabenga mwana wa muntu alituula omwo. 24JER049.034 The word of the LORD that came to Jeremiah the prophet against Elam in the beginning of the reign of Zedekiah king of Judah, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi ekya Eramu, Zeddekiya kabaka wa Yuda nga kyajje alye obwakabaka, nga kyogera nti 24JER049.035 Thus saith the LORD of hosts; Behold, I will break the bow of Elam, the chief of their might. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, bwe bwesige obw'amaanyi gaabwe. 24JER049.036 And upon Elam will I bring the four winds from the four quarters of heaven, and will scatter them toward all those winds; and there shall be no nation whither the outcasts of Elam shall not come. %%% Era ndireeta ku Eramu empewo ennya okuva mu njuyi zonna ez'eggulu, era ndibasaasaanyiza eri empewo ezo zonna; so tewaliba ggwanga abagobebwa aba Eramu gye batalituuka. 24JER049.037 For I will cause Elam to be dismayed before their enemies, and before them that seek their life: and I will bring evil upon them, even my fierce anger, saith the LORD; and I will send the sword after them, till I have consumed them: %%% Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe: era ndibaleetako obubi, ekiruyi kyange, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalawo: 24JER049.038 And I will set my throne in Elam, and will destroy from thence the king and the princes, saith the LORD. %%% era nditeeka entebe yange mu Eramu, ne mmalamu omwo kabaka n'abakungu, bw'ayogera Mukama. 24JER049.039 But it shall come to pass in the latter days, that I will bring again the captivity of Elam, saith the LORD. %%% Naye olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ndikomyawo nate obusibe bwa Edomu, bw'ayogera Mukama. 24JER050.001 The word that the LORD spake against Babylon and against the land of the Chaldeans by Jeremiah the prophet. %%% Ekigambo Mukama kye yayogera ekifa ku Babulooni, eky'ensi ey'Abakaludaaya, mu Yeremiya nnabbi. 24JER050.002 Declare ye among the nations, and publish, and set up a standard; publish, and conceal not: say, Babylon is taken, Bel is confounded, Merodach is broken in pieces; her idols are confounded, her images are broken in pieces. %%% Mubuulire mu mawanga, mulangirire, musimbe ebendera; mulaalike, so temukisa: mwogere nti Babulooni kimenyeddwa, Beri akwatiddwa ensonyi, Merodaaki akeŋŋentereddwa; ebifaananyi byakyo bikwatiddwa ensonyi, esanamu zaakyo zikeŋŋentereddwa. 24JER050.003 For out of the north there cometh up a nation against her, which shall make her land desolate, and none shall dwell therein: they shall remove, they shall depart, both man and beast. %%% Kubanga mu bukiika obwa kkono evaayo eggwanga okukitabaala, erizisa ensi yaakyo, so tewaliba alibeera omwo: badduse, bagenze, abantu era n'ensolo. 24JER050.004 In those days, and in that time, saith the LORD, the children of Israel shall come, they and the children of Judah together, going and weeping: they shall go, and seek the LORD their God. %%% Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri balijja, bo n'abaana ba Yuda wamu; balikwata ekkubo lyabwe nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe. 24JER050.005 They shall ask the way to Zion with their faces thitherward, saying, Come, and let us join ourselves to the LORD in a perpetual covenant that shall not be forgotten. %%% Balibuuza ebya Sayuuni, amaaso gaabwe nga gatunulayo, nga boogera nti Mujje mwegatte ne Mukama nga mulagaanye endagaano eteriggwaawo eteryerabirwa. 24JER050.006 My people hath been lost sheep: their shepherds have caused them to go astray, they have turned them away on the mountains: they have gone from mountain to hill, they have forgotten their restingplace. %%% Abantu bange baabanga ndiga ezaabula: abasumba baabwe baabawabya, baabakyamiza ku nsozi: baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekifo kyabwe eky'okuwummuliramu. 24JER050.007 All that found them have devoured them: and their adversaries said, We offend not, because they have sinned against the LORD, the habitation of justice, even the LORD, the hope of their fathers. %%% Bonna abaabalaba babalidde: n'abalabe baabwe ne boogera nti Tetwonoona kubanga bo basobezza Mukama, omubeera obutuukirivu, Mukama essuubi lya bajjajjaabwe. 24JER050.008 Remove out of the midst of Babylon, and go forth out of the land of the Chaldeans, and be as the he goats before the flocks. %%% Mudduke muve wakati mu Babulooni, muve mu nsi ey'Abakaludaaya, mubeere ng'embuzi emmandwa mu maaso g'ebisibo. 24JER050.009 For, lo, I will raise and cause to come up against Babylon an assembly of great nations from the north country: and they shall set themselves in array against her; from thence she shall be taken: their arrows shall be as of a mighty expert man; none shall return in vain. %%% Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky'amawanga amakulu ne mbatabaaza Babulooni okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono: era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; kiriggibwa eyo: obusaale bwabwe buliba ng'obw'omusajja ow'amaanyi omukabakaba; tewaliba alidda obusa. 24JER050.010 And Chaldea shall be a spoil: all that spoil her shall be satisfied, saith the LORD. %%% Kale Obukaludaaya buliba munyago: bonna ababunyaga balikkuta, bw'ayogera Mukama. 24JER050.011 Because ye were glad, because ye rejoiced, O ye destroyers of mine heritage, because ye are grown fat as the heifer at grass, and bellow as bulls; %%% Kubanga musanyuse, kubanga mujaguza, mmwe abanyaga obusika bwange, kubanga muligita ng'ente enduusi ewuula, ne mufugula ng'embalaasi ez'amaanyi; 24JER050.012 Your mother shall be sore confounded; she that bare you shall be ashamed: behold, the hindermost of the nations shall be a wilderness, a dry land, and a desert. %%% nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala: laba, aliba wa nkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, n'eddungu. 24JER050.013 Because of the wrath of the LORD it shall not be inhabited, but it shall be wholly desolate: every one that goeth by Babylon shall be astonished, and hiss at all her plagues. %%% Olw'obusungu bwa Mukama kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala: buli ayita ku Babulooni alisamaalirira n'asooza ebibonoobono byakyo byonna. 24JER050.014 Put yourselves in array against Babylon round about: all ye that bend the bow, shoot at her, spare no arrows: for she hath sinned against the LORD. %%% Musimbe ennyiriri okulwana ne Babulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale: kubanga kyayonoona Mukama. 24JER050.015 Shout against her round about: she hath given her hand: her foundations are fallen, her walls are thrown down: for it is the vengeance of the LORD: take vengeance upon her; as she hath done, do unto her. %%% Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga mukikole bwe mutyo. 24JER050.016 Cut off the sower from Babylon, and him that handleth the sickle in the time of harvest: for fear of the oppressing sword they shall turn every one to his people, and they shall flee every one to his own land. %%% Mumaleewo asiga mu Babulooni, n'oyo akwata ekiwabyo mu biro eby'okukunguliramu: olw'okutya ekitala ekijooga balikyukira buli muntu eri abantu b'ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y'ewaabwe. 24JER050.017 Israel is a scattered sheep; the lions have driven him away: first the king of Assyria hath devoured him; and last this Nebuchadrezzar king of Babylon hath broken his bones. %%% Isiraeri ndiga ewabye; empologoma zimugobye kabaka w’e Bwasuli ye yasooka okumulya; ne Nebukadduleeza ono kabaka w’e Babulooni ye w'enkomerero, amenye emagumba ge. 24JER050.018 Therefore thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Behold, I will punish the king of Babylon and his land, as I have punished the king of Assyria. %%% Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n'ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w’e Bwasuli. 24JER050.019 And I will bring Israel again to his habitation, and he shall feed on Carmel and Bashan, and his soul shall be satisfied upon mount Ephraim and Gilead. %%% Era ndikomyawo Isiraeri nate mu ddundiro lye, era aliriira ku Kalumeeri ne Basani, n'emmeeane ye erikkutira ku nsozi za Efulayimu, ne mu Gireyaadi. 24JER050.020 In those days, and in that time, saith the LORD, the iniquity of Israel shall be sought for, and there shall be none; and the sins of Judah, and they shall not be found: for I will pardon them whom I reserve. %%% Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya so nga tewali; n'ebibi bya Yuda, so tebirirabika: kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo. 24JER050.021 Go up against the land of Merathaim, even against it, and against the inhabitants of Pekod: waste and utterly destroy after them, saith the LORD, and do according to all that I have commanded thee. %%% Tabaala ensi y'e Merasayimu, gy'oba otabaala, n'abo abali mu Pekodi: otte ozikiririze ddala ennyuma waabwe, bw'ayogera Mukama, okole nga byonna bwe biri bye nnakulagira. 24JER050.022 A sound of battle is in the land, and of great destruction. %%% Eddoboozi ery'entalo liri mu nsi n'ery'okuzikirira okunene. 24JER050.023 How is the hammer of the whole earth cut asunder and broken! how is Babylon become a desolation among the nations! %%% Ennyondo ey'ensi zonna ng'etemeddwa ng'emenyese! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga! 24JER050.024 I have laid a snare for thee, and thou art also taken, O Babylon, and thou wast not aware: thou art found, and also caught, because thou hast striven against the LORD. %%% Nakutegera omutego, n'okukwatibwa okwatiddwa, ai Babulooni, so tewamanyirira: olabise n'okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama. 24JER050.025 The LORD hath opened his armoury, and hath brought forth the weapons of his indignation: for this is the work of the Lord GOD of hosts in the land of the Chaldeans. %%% Mukama asumuludde etterekero ly'ebyokulwanyisa bye, era aggyeemu ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe: kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya. 24JER050.026 Come against her from the utmost border, open her storehouses: cast her up as heaps, and destroy her utterly: let nothing of her be left. %%% Mujje mukirumbe nga muva ku nsalo ekomererayo, musumulule amawanika gaakyo: mukituume nga bifunvu, mukizikiririze ddala: waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo. 24JER050.027 Slay all her bullocks; let them go down to the slaughter: woe unto them! for their day is come, the time of their visitation. %%% Mutte ente zaakyo zonna; ziserengete mu kuttibwa: zizisanze! kubanga olunaku lwazo lutuuse, olunaku kwe zirijjirwa. 24JER050.028 The voice of them that flee and escape out of the land of Babylon, to declare in Zion the vengeance of the LORD our God, the vengeance of his temple. %%% Eddoboozi ly'abo abadduka ne bawona mu nsi y'e Babuloomi, okubuulira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly'aliwalana, ly'aliwalana olwa yeekaalu ye. 24JER050.029 Call together the archers against Babylon: all ye that bend the bow, camp against it round about; let none thereof escape: recompense her according to her work; according to all that she hath done, do unto her: for she hath been proud against the LORD, against the Holy One of Israel. %%% Muyite abalasi bakuŋŋaane balumbe Babulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyolekera enjuyi zonna; waleme okuba aliwona ku kyo: musasule ng'omulimu gwakyo bwe gwali; nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo mukikolanga: kubanga yabanga wa malala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri. 24JER050.030 Therefore shall her young men fall in the streets, and all her men of war shall be cut off in that day, saith the LORD. %%% Abalenzi baakyo kye baliva bagwira mu nguudo zaakyo, abasajja baakyo bonna abalwanyi balisirisibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama. 24JER050.031 Behold, I am against thee, O thou most proud, saith the Lord GOD of hosts: for thy day is come, the time that I will visit thee. %%% Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe alina amalala, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye: kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakujjirira. 24JER050.032 And the most proud shall stumble and fall, and none shall raise him up: and I will kindle a fire in his cities, and it shall devour all round about him. %%% Alina amalala alyesittala n'agwa, so tewaliba alimuyimusa; era ndikuma omuliro mu bibuga bye, era gulyokya bonna abamwetoolodde. 24JER050.033 Thus saith the LORD of hosts; The children of Israel and the children of Judah were oppressed together: and all that took them captives held them fast; they refused to let them go. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda babajoogera wamu: n'abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza; bagaanyi okubata. 24JER050.034 Their Redeemer is strong; the LORD of hosts is his name: he shall throughly plead their cause, that he may give rest to the land, and disquiet the inhabitants of Babylon. %%% Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w'eggye lye linnya lye: aliwoleza ddala ensongi yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babulooni. 24JER050.035 A sword is upon the Chaldeans, saith the LORD, and upon the inhabitants of Babylon, and upon her princes, and upon her wise men. %%% Ekitala kiri ku Bakaludaaya, bw'ayogera Mukama, ne ku abo abali mu Babulooni ne ku bakungu baamu ne ku bagezigezi baamu. 24JER050.036 A sword is upon the liars; and they shall dote: a sword is upon her mighty men; and they shall be dismayed. %%% Ekitala kiri ku abo abeenyumiriza, era balisiruwala: ekitala kiri ku basajja baamu ab'amaanyi, era balikeŋŋentererwa. 24JER050.037 A sword is upon their horses, and upon their chariots, and upon all the mingled people that are in the midst of her; and they shall become as women: a sword is upon her treasures; and they shall be robbed. %%% Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe ne ku magaali gaabwe ne ku bantu bonna abaatabulwa abali wakati mu kyo, era balifuuka ng'abakazi; ekitala kiri ku bintu byamu eby'obugagga, era birinyagibwa. 24JER050.038 A drought is upon her waters; and they shall be dried up: for it is the land of graven images, and they are mad upon their idols. %%% Ekyanda kiri ku mazzi gaamu, era galikalira: kubanga nsi ya bifaananyi byole, era balalukidde esanamu. 24JER050.039 Therefore the wild beasts of the desert with the wild beasts of the islands shall dwell there, and the owls shall dwell therein: and it shall be no more inhabited for ever; neither shall it be dwelt in from generation to generation. %%% Ensolo ez'omu nsiko ez'omu ddungu kyezinaavanga zibeera eyo ne bamaaya banaabeeranga omwo so tekiibeerwengamu nate ennaku zonna; so tekiituulwengamu emirembe n'emirembe. 24JER050.040 As God overthrew Sodom and Gomorrah and the neighbour cities thereof, saith the LORD; so shall no man abide there, neither shall any son of man dwell therein. %%% Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo bw'ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo. 24JER050.041 Behold, a people shall come from the north, and a great nation, and many kings shall be raised up from the coasts of the earth. %%% Laba, eggwanga liva obukiika obwa kkono; era ekika ekikulu, eri bakabaka bangi abaliyimusibwa okuva ku njuyi z'ensi ezikomererayo. 24JER050.042 They shall hold the bow and the lance: they are cruel, and will not shew mercy: their voice shall roar like the sea, and they shall ride upon horses, every one put in array, like a man to the battle, against thee, O daughter of Babylon. %%% Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala ng'omuntu bw'atalira olutalo, okulwana naawe, ai omuwala wa Babulooni. 24JER050.043 The king of Babylon hath heard the report of them, and his hands waxed feeble: anguish took hold of him, and pangs as of a woman in travail. %%% Kabaka w’e Babulooni awulidde ettutumo lyabwe emikono gye ne giddirira: obubalagaze bumukutte n'obulumi ng'omukazi alumwa okuzaala. 24JER050.044 Behold, he shall come up like a lion from the swelling of Jordan unto the habitation of the strong: but I will make them suddenly run away from her: and who is a chosen man, that I may appoint over her? for who is like me? and who will appoint me the time? and who is that shepherd that will stand before me? %%% Laba, alirinnya ng'empologoma eva ku malala ga Yoludaani, okulumba ekifo eky'amaanyi eky'okubeeramu naye ndikibaddusa mangu ago; eri buli alirondebwa, oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze era ani alinteekerawo ekiseera? eri ani omusumba aliyimirira mu maaso gange? 24JER050.045 Therefore hear ye the counsel of the LORD, that he hath taken against Babylon; and his purposes, that he hath purposed against the land of the Chaldeans: Surely the least of the flock shall draw them out: surely he shall make their habitation desolate with them. %%% Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateeseza ku Babulooni; n'ebyo by'amaliridde eri ensi ey'Abakaludaaya: Tebalirema kubawalula okubaggyayo, abaana abato ab'omu kisibo; talirema kulekesaayo ekifo kyabwe eky'okubeeramu wamu nabo. 24JER050.046 At the noise of the taking of Babylon the earth is moved, and the cry is heard among the nations. %%% Olw'eddoboozi y'okumenya Babulooni ettaka likankana, n'okukaaba kuwuliddwa mu mawanga. 24JER051.001 Thus saith the LORD; Behold, I will raise up against Babylon, and against them that dwell in the midst of them that rise up against me, a destroying wind; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta ku Babulooni ne ku abo abali mu Lebukamaayi embuyaga ezizikiriza. 24JER051.002 And will send unto Babylon fanners, that shall fan her, and shall empty her land: for in the day of trouble they shall be against her round about. %%% Era nditumira Babulooni bannaggwanga balikiwujja; n'ensi yaakyo baligimalamu byonna: kubanga balikirumbira enjuyi zonna ku lunaku lw'okulabiramu ennaku. 24JER051.003 Against him that bendeth let the archer bend his bow, and against him that lifteth himself up in his brigandine: and spare ye not her young men; destroy ye utterly all her host. %%% Omulasi aleme okunaanuula omutego gwe, so aleme okweyimusa ng'ayambadde ekizibawo kye eky'ebyuma; so temusonyiwa balenzi baamu; muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna. 24JER051.004 Thus the slain shall fall in the land of the Chaldeans, and they that are thrust through in her streets. %%% Era baligwira mu nsi ey'Abakaludaaya nga battiddwa, era nga bafumitiddwa mu nguudo zaakyo. 24JER051.005 For Israel hath not been forsaken, nor Judah of his God, of the LORD of hosts; though their land was filled with sin against the Holy One of Israel. %%% Kubanga Isiraeri talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, newakubadde Yuda; ensi yaabwe ng'ejjudde omusango gwe bazza eri omutukuvu wa Isiraeri. 24JER051.006 Flee out of the midst of Babylon, and deliver every man his soul: be not cut off in her iniquity; for this is the time of the LORD's vengeance; he will render unto her a recompence. %%% Mudduke muve mu Babulooni wakati, muwonye buli muntu obulamu bwe; temuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo: kubanga bye biro Mukama mw'awalanira eggwanga; likisasula empeera. 24JER051.007 Babylon hath been a golden cup in the LORD's hand, that made all the earth drunken: the nations have drunken of her wine; therefore the nations are mad. %%% Babulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiiza ensi zonna: amawanga ganywedde ku mwenge gwakyo; amawanga kyegavudde galaluka. 24JER051.008 Babylon is suddenly fallen and destroyed: howl for her; take balm for her pain, if so be she may be healed. %%% Babulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde: mukiwowogganire; muddire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba nga mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa. 24JER051.009 We would have healed Babylon, but she is not healed: forsake her, and let us go every one into his own country: for her judgment reacheth unto heaven, and is lifted up even to the skies. %%% Twandiwonyezza Babulooni, naye tekiwonye: mukireke, tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe ye; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bbanga. 24JER051.010 The LORD hath brought forth our righteousness: come, and let us declare in Zion the work of the LORD our God. %%% Mukama ayolesezza obutuukirivu bwaffe: mujje tubuulire mu Sayuuni omulimu gwa Mukama Katonda waffe. 24JER051.011 Make bright the arrows; gather the shields: the LORD hath raised up the spirit of the kings of the Medes: for his device is against Babylon, to destroy it; because it is the vengeance of the LORD, the vengeance of his temple. %%% Muzigule obusaale, munyweze engabo: Mukama akubirizza omwoyo gwa bakabaka b'Abameedi; kubanga okuteesa kwe kuli eri Babulooni okukizikiriza: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana, ly'awalana olwa yeekaalu ye. 24JER051.012 Set up the standard upon the walls of Babylon, make the watch strong, set up the watchmen, prepare the ambushes: for the LORD hath both devised and done that which he spake against the inhabitants of Babylon. %%% Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w'e Babulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi: kubanga Mukama ateesezza n'okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babulooni. 24JER051.013 O thou that dwellest upon many waters, abundant in treasures, thine end is come, and the measure of thy covetousness. %%% Ai ggwe atuula ku mazzi amangi, alina eby'obugagga ebingi ennyo nnyini, enkomerero yo etuuse, ekigera ky'omululu gwo. 24JER051.014 The LORD of hosts hath sworn by himself, saying, Surely I will fill thee with men, as with caterpillers; and they shall lift up a shout against thee. %%% Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti Mazima ndikujjuza abasajja nga bulusejjera; era balikukuba olwogoolo. 24JER051.015 He hath made the earth by his power, he hath established the world by his wisdom, and hath stretched out the heaven by his understanding. %%% Yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe: 24JER051.016 When he uttereth his voice, there is a multitude of waters in the heavens; and he causeth the vapours to ascend from the ends of the earth: he maketh lightnings with rain, and bringeth forth the wind out of his treasures. %%% bw'aleeta eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge. 24JER051.017 Every man is brutish by his knowledge; every founder is confounded by the graven image: for his molten image is falsehood, and there is no breath in them. %%% Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ekifaananyi kye ekyole kimukwasa ensonyi: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so mu byo temuli mukka, 24JER051.018 They are vanity, the work of errors: in the time of their visitation they shall perish. %%% Birerya, mulimu gwa bulimba: mu biro mwe birijjirirwa birizikirira. 24JER051.019 The portion of Jacob is not like them; for he is the former of all things: and Israel is the rod of his inheritance: the LORD of hosts is his name. %%% Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo: kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye. 24JER051.020 Thou art my battle axe and weapons of war: for with thee will I break in pieces the nations, and with thee will I destroy kingdoms; %%% Ggwe mbazzi yange erwana, era eby'okulwanyisa byange: era ggwe ndimenyesamenyesa amawanga; era ggwe ndizikirizisa obwakabaka; 24JER051.021 And with thee will I break in pieces the horse and his rider; and with thee will I break in pieces the chariot and his rider; %%% era ggwe ndimenyesamenyesa embalaasi n'oyo agyebagadde; 24JER051.022 With thee also will I break in pieces man and woman; and with thee will I break in pieces old and young; and with thee will I break in pieces the young man and the maid; %%% era ggwe ndimenyesamenyesa ekigaali n'oyo akitambuliramu; era ggwe ndimenyesamenyesa omusajja n'omukazi; era ggwe ndimenyesamenyesa omukadde n'omulenzi; era ggwe ndimenyesamenyesa omulenzi n'omuwala; 24JER051.023 I will also break in pieces with thee the shepherd and his flock; and with thee will I break in pieces the husbandman and his yoke of oxen; and with thee will I break in pieces captains and rulers. %%% era ggwe ndimenyesamenyesa omusumba n'ekisibo kye; era ggwe ndimenyesamenyesa omulimi n'omugogo gwe ogw'ente; era ggwe ndimenyesamenyesa abafuga n'abasigire. 24JER051.024 And I will render unto Babylon and to all the inhabitants of Chaldea all their evil that they have done in Zion in your sight, saith the LORD. %%% Era ndisasula Babulooni n'abo bonna abali mu Bukaludaaya obubi bwabwe bwonna bwe baakakola mu Sayuuni mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama: 24JER051.025 Behold, I am against thee, O destroying mountain, saith the LORD, which destroyest all the earth: and I will stretch out mine hand upon thee, and roll thee down from the rocks, and will make thee a burnt mountain. %%% Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna: era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya. 24JER051.026 And they shall not take of thee a stone for a corner, nor a stone for foundations; but thou shalt be desolate for ever, saith the LORD. %%% So tebalikuggyako jjinja okuba ensonda, newakubadde ejjinja ery'emisingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw'ayogera Mukama. 24JER051.027 Set ye up a standard in the land, blow the trumpet among the nations, prepare the nations against her, call together against her the kingdoms of Ararat, Minni, and Ashchenaz; appoint a captain against her; cause the horses to come up as the rough caterpillers. %%% Musimbe ebendera mu nsi, mufuuwe ekkondeere mu mawanga, mutegeke amawanga okulwana nakyo, muyite obwakabaka obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi, okukikuŋŋaanirako: mukigabire omugabe; mulinnyise embalaasi ng'obuwuka obuliko obwoya. 24JER051.028 Prepare against her the nations with the kings of the Medes, the captains thereof, and all the rulers thereof, and all the land of his dominion. %%% Mutegeke amawanga okulwana nakyo, bakabaka b'Abameedi, abaamasaza baamu, n'abasigire bonna abaamu, n'ensi yonna gy'atwala. 24JER051.029 And the land shall tremble and sorrow: for every purpose of the LORD shall be performed against Babylon, to make the land of Babylon a desolation without an inhabitant. %%% Era ensi ekankana, erumwa: kubanga ebyo Mukama bye yamalirira eri Babulooni binywera, okufuula ensi y'e Babulooni amatongo, nga tewali abeeramu. 24JER051.030 The mighty men of Babylon have forborn to fight, they have remained in their holds: their might hath failed; they became as women: they have burned her dwellingplaces; her bars are broken. %%% Abasajja ab'amaanyi ab'e Babulooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bifo byabwe eby'amaanyi; amaanyi gaabwe gaweddewo; bafuuse ng'abakazi: ennyumba zaakyo zookeddwa; ebisiba byakyo bimenyese. 24JER051.031 One post shall run to meet another, and one messenger to meet another, to shew the king of Babylon that his city is taken at one end, %%% Matalisi omu aliddukana okusisinkana ne munne, n'omubaka omu okusisinkana ne munne, okunnyonnyola kabaka w'e Babulooni ng'ekibuga kye kimenyeddwa enjuyi zonna: 24JER051.032 And that the passages are stopped, and the reeds they have burned with fire, and the men of war are affrighted. %%% era basoonookerezza amawungukiro n'endago bazookezza omuliro, n'abasajja abalwanyi batidde. 24JER051.033 For thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; The daughter of Babylon is like a threshingfloor, it is time to thresh her: yet a little while, and the time of her harvest shall come. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Omuwala wa Babulooni aliŋŋanga egguuliro mu biro lwe balisambiramu; ekyasigaddeyo ekiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu birikituukira. 24JER051.034 Nebuchadrezzar the king of Babylon hath devoured me, he hath crushed me, he hath made me an empty vessel, he hath swallowed me up like a dragon, he hath filled his belly with my delicates, he hath cast me out. %%% Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni andidde, ambetense, anfudde ekibya ekyereere, ammize ng'ogusota, ajjuzizza olubuto lwe eby'okuliira byange ebirungi; ansudde. 24JER051.035 The violence done to me and to my flesh be upon Babylon, shall the inhabitant of Zion say; and my blood upon the inhabitants of Chaldea, shall Jerusalem say. %%% Ekyejo ekyagirirwa nze n'omubiri gwange kibeere ku Babulooni, ali mu Sayuuni bw'alyogera; era Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya, Yerusaalemi bw'alyogera. 24JER051.036 Therefore thus saith the LORD; Behold, I will plead thy cause, and take vengeance for thee; and I will dry up her sea, and make her springs dry. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga: era ndikaliza ennyanja yaakyo, era ndimalawo ensulo yaakyo. 24JER051.037 And Babylon shall become heaps, a dwellingplace for dragons, an astonishment, and an hissing, without an inhabitant. %%% Kale Babulooni kirifuuka bifunvu, ekifo eky'ebibe eky'okubeeramu, ekyewuunyo, n'okusoozebwa, nga tewali akibeeramu. 24JER051.038 They shall roar together like lions: they shall yell as lions' whelps. %%% Baliwulugumira wamu ng'empologoma ento; balivuumira wamu ng'abaana b'empologoma. 24JER051.039 In their heat I will make their feasts, and I will make them drunken, that they may rejoice, and sleep a perpetual sleep, and not wake, saith the LORD. %%% Bwe balibuguumirira, lwe ndifumba embaga yaabwe, era ndibatamiiza, basanyuke, era beebake otulo otutaliggwaawo, so baleme okuzuukuka, bw'ayogera Mukama. 24JER051.040 I will bring them down like lambs to the slaughter, like rams with he goats. %%% Ndibaserengesa ng'abaana b'endiga okuttibwa, ng'endiga ennume wamu n'embuzi emmandwa. 24JER051.041 How is Sheshach taken! and how is the praise of the whole earth surprised! how is Babylon become an astonishment among the nations! %%% Sesaki nga kimenyeddwa! n'ettendo ery'ensi zonna nga balisonookerezza! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga! 24JER051.042 The sea is come up upon Babylon: she is covered with the multitude of the waves thereof. %%% Ennyanja erinnye ku Babulooni: olufulube lw'amayengo gaayo lukibisseeko. 24JER051.043 Her cities are a desolation, a dry land, and a wilderness, a land wherein no man dwelleth, neither doth any son of man pass thereby. %%% Ebibuga byakyo bifuuse matongo, ensi enkalu n'eddungu, ensi omutali muntu so tewali mwana wa muntu ayitawo. 24JER051.044 And I will punish Bel in Babylon, and I will bring forth out of his mouth that which he hath swallowed up: and the nations shall not flow together any more unto him: yea, the wall of Babylon shall fall. %%% Era ndireeta omusango ku Beri mu Babulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira; so n'amawanga nga tegakyakulukutira wamu gy'a1i nate: weewaawo, bbugwe w'e Babulooni aligwa. 24JER051.045 My people, go ye out of the midst of her, and deliver ye every man his soul from the fierce anger of the LORD. %%% Mmwe abantu bange, muve wakati mu kyo, mwerokole buli muntu ekiruyi kya Mukama. 24JER051.046 And lest your heart faint, and ye fear for the rumour that shall be heard in the land; a rumour shall both come one year, and after that in another year shall come a rumour, and violence in the land, ruler against ruler. %%% So n'omutima gwammwe guleme okuzirika, so temutyanga olw'ekigambo ekiriwulirwa mu nsi; kubanga ekigambo kirijjira mu mwaka gumu, era oluvannyuma mu mwaka omulala ekigambo kirijja n'ekyejo mu nsi, owessaza ng'alwana n'owessaza. 24JER051.047 Therefore, behold, the days come, that I will do judgment upon the graven images of Babylon: and her whole land shall be confounded, and all her slain shall fall in the midst of her. %%% Kale, laba, ennaku zijja lwe ndireeta omusango ku bifaananyi ebyole ebya Babulooni, n'ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwira wakati mu kyo. 24JER051.048 Then the heaven and the earth, and all that is therein, shall sing for Babylon: for the spoilers shall come unto her from the north, saith the LORD. %%% Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babulooni; kubanga abanyazi balijja gye kiri okuva obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama. 24JER051.049 As Babylon hath caused the slain of Israel to fall, so at Babylon shall fall the slain of all the earth. %%% Nga Babulooni bwe kyagwisa aba Isiraeri abattibwa, bwe batyo e Babulooni ab'ensi yonna abattiddwa gye baligwira. 24JER051.050 Ye that have escaped the sword, go away, stand not still: remember the LORD afar off, and let Jerusalem come into your mind. %%% Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi; mujjukire Mukama nga muyima wala, era Yerusaalemi kiyingire mu mwoyo gwammwe. 24JER051.051 We are confounded, because we have heard reproach: shame hath covered our faces: for strangers are come into the sanctuaries of the LORD's house. %%% Tukwatiddwa ensonyi, kubanga tuwulidde ebivume; amaaso gaffe gaswadde: kubanga bannaggwanga bayingidde mu bifo ebitukuvu eby'omu nnyumba ya Mukama. 24JER051.052 Wherefore, behold, the days come, saith the LORD, that I will do judgment upon her graven images: and through all her land the wounded shall groan. %%% Kale, laba, ennnaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndireeta omusango ku bifaananyi byakyo ebyole; ne mu nsi yaakyo yonna abaliko ebiwundu balisinda. 24JER051.053 Though Babylon should mount up to heaven, and though she should fortify the height of her strength, yet from me shall spoilers come unto her, saith the LORD. %%% Babulooni newakubadde nga kirinnye okutuusa mu ggulu, era newakubadde nga kinywezezza entikko ey'amaanyi gaakyo, era naye abanyazi balijja gye kiri okuva we ndi, bw'ayogera Mukama. 24JER051.054 A sound of a cry cometh from Babylon, and great destruction from the land of the Chaldeans: %%% Eddoboozi ery'okukaaba erivudde mu Babulooni n'ery'okuzikirira okunene erivudde mu nsi ey'Abakaludaaya! 24JER051.055 Because the LORD hath spoiled Babylon, and destroyed out of her the great voice; when her waves do roar like great waters, a noise of their voice is uttered: %%% kubanga Mukama anyaga Babulooni, era azikirizza oluyoogaano olunene okuva mu kyo; n'amayengo gaabwe gawuuma ng'amazzi amangi, era baleeta okuyoogaana kw'eddoboozi lyabwe: 24JER051.056 Because the spoiler is come upon her, even upon Babylon, and her mighty men are taken, every one of their bows is broken: for the LORD God of recompences shall surely requite. %%% kubanga omunyazi akituuseeko, ku Babulooni, n'abasajja baamu ab'amaanyi bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese: kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kuwa mpeera. 24JER051.057 And I will make drunk her princes, and her wise men, her captains, and her rulers, and her mighty men: and they shall sleep a perpetual sleep, and not wake, saith the King, whose name is the LORD of hosts. %%% Era nditaamiiza abakungu baamu n'abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n'abasigire baamu n'abasajja baamu ab'amaanyi; era balyebaka otulo otutaliggwaawo so tebalizuukuka, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye. 24JER051.058 Thus saith the LORD of hosts; The broad walls of Babylon shall be utterly broken, and her high gates shall be burned with fire; and the people shall labour in vain, and the folk in the fire, and they shall be weary. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Babbugwe abagazi b'e Babulooni balisuulirwa ddala, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro; n'amawanga galiteganira obutaliimu, n'ebika biriteganira omuliro; era balikoowa. 24JER051.059 The word which Jeremiah the prophet commanded Seraiah the son of Neriah, the son of Maaseiah, when he went with Zedekiah the king of Judah into Babylon in the fourth year of his reign. And this Seraiah was a quiet prince. %%% Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni wamu ne Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwaka ogw'okufuga kwe ogw'okuma. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu. 24JER051.060 So Jeremiah wrote in a book all the evil that should come upon Babylon, even all these words that are written against Babylon. %%% Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okujja ku Babulooni, bye bigambo ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku Babulooni. 24JER051.061 And Jeremiah said to Seraiah, When thou comest to Babylon, and shalt see, and shalt read all these words; %%% Awo Yeremiya n'agamba Seraya nti Bw'olituuka mu Babulooni, kale tolemanga kusoma, ebigambo bino byonna, 24JER051.062 Then shalt thou say, O LORD, thou hast spoken against this place, to cut it off, that none shall remain in it, neither man nor beast, but that it shall be desolate for ever. %%% oyogere nti Ai Mukama, wayogera eby'ekifo kino okukizikiriza omuntu yenna aleme okutuula omwo, omuntu newakubadde ensolo, naye kirekebwewo ennaku zonna. 24JER051.063 And it shall be, when thou hast made an end of reading this book, that thou shalt bind a stone to it, and cast it into the midst of Euphrates: %%% Awo olulituuka bw'olimala okusoma ekitabo kino, n'olyoka okisibako ejjinja n'okisuula mu Fulaati wakati: 24JER051.064 And thou shalt say, Thus shall Babylon sink, and shall not rise from the evil that I will bring upon her: and they shall be weary. Thus far are the words of Jeremiah. %%% era olyogera nti Babulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako: era balikoowa. Ebigambo bya Yeremiya we bikoma wano. 24JER052.001 Zedekiah was one and twenty years old when he began to reign, and he reigned eleven years in Jerusalem. And his mother's name was Hamutal the daughter of Jeremiah of Libnah. %%% Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. 24JER052.002 And he did that which was evil in the eyes of the LORD, according to all that Jehoiakim had done. %%% N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yali akoze. 24JER052.003 For through the anger of the LORD it came to pass in Jerusalem and Judah, till he had cast them out from his presence, that Zedekiah rebelled against the king of Babylon. %%% Kubanga kyatuukirira olw'obusungu bwa Mukama mu Yerusaalemi ne Yuda okutuusa lwe yamala okubasuula okuva mu maaso ge: era Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni. 24JER052.004 And it came to pass in the ninth year of his reign, in the tenth month, in the tenth day of the month, that Nebuchadrezzar king of Babylon came, he and all his army, against Jerusalem, and pitched against it, and built forts against it round about. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda ogw'okufuga kwe mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okutabaala Yerusaalemi n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna. 24JER052.005 So the city was besieged unto the eleventh year of king Zedekiah. %%% Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuuka ku mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa kabaka Zeddekiya. 24JER052.006 And in the fourth month, in the ninth day of the month, the famine was sore in the city, so that there was no bread for the people of the land. %%% Mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi enjala n'eba nnyingi mu kibuga, ne watabaawo mmere eri abantu ab'omu nsi. 24JER052.007 Then the city was broken up, and all the men of war fled, and went forth out of the city by night by the way of the gate between the two walls, which was by the king's garden; (now the Chaldeans were by the city round about:) and they went by the way of the plain. %%% Awo ne bawagula ekituli mu kibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati mu babbugwe ababiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; (era Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga) enjuyi zonna ne bayita mu kkubo erya Alaba. 24JER052.008 But the army of the Chaldeans pursued after the king, and overtook Zedekiah in the plains of Jericho; and all his army was scattered from him. %%% Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka Zeddekiya ne bamuyisiriza mu nsenyi ez'e Yeriko; eggye lyonna ne lisaasaana okumuvaako. 24JER052.009 Then they took the king, and carried him up unto the king of Babylon to Riblah in the land of Hamath; where he gave judgment upon him. %%% Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa eri kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi; n'amusalira omusango. 24JER052.010 And the king of Babylon slew the sons of Zedekiah before his eyes: he slew also all the princes of Judah in Riblah. %%% Awo kabaka w'e Babulooni n'atta batabani ba Zeddekiya ye ng'alaba: era n'attira n'abakungu bonna aba Yuda e Libula. 24JER052.011 Then he put out the eyes of Zedekiah; and the king of Babylon bound him in chains, and carried him to Babylon, and put him in prison till the day of his death. %%% Zeddekiya n'amugyamu amaaso; kabaka w'e Baulooni n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babulooni, n'amuteeka mu kkomera okutuusa ku lunaku kwe yafiira. 24JER052.012 Now in the fifth month, in the tenth day of the month, which was the nineteenth year of Nebuchadrezzar king of Babylon, came Nebuzaradan, captain of the guard, which served the king of Babylon, into Jerusalem, %%% Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw’ekkumi olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni, Nebuzaladaani mukulu w'abambowa, eyayimiriranga mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, n'ajja mu Yerusaalemi: 24JER052.013 And burned the house of the LORD, and the king's house; and all the houses of Jerusalem, and all the houses of the great men, burned he with fire: %%% n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'enyumba zonna ez'omu Yeusaalemi, buli nnyumba ennene n'agyokya omuliro. 24JER052.014 And all the army of the Chaldeans, that were with the captain of the guard, brake down all the walls of Jerusalem round about. %%% N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali wamu n'omukulu w'abambowa ne bamenya bbugwe yenna ow'e Yerusaalemi enjuyi zonna. 24JER052.015 Then Nebuzaradan the captain of the guard carried away captive certain of the poor of the people, and the residue of the people that remained in the city, and those that fell away, that fell to the king of Babylon, and the rest of the multitude. %%% Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa nga basibe ku abo abasinga obwavu ku bantu n'ekitundu ekifisseewo ku bantu ekyali kisigadde mu kibuga n'abo abaali basenguse, abaasenga kabaka w’e Babulooni, n'ekitundu ekyali kisigaddewo eky'abakopi. 24JER052.016 But Nebuzaradan the captain of the guard left certain of the poor of the land for vinedressers and for husbandmen. %%% Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abasinga obwavu mu nsi okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga. 24JER052.017 Also the pillars of brass that were in the house of the LORD, and the bases, and the brasen sea that was in the house of the LORD, the Chaldeans brake, and carried all the brass of them to Babylon. %%% N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala e Babulooni ebikomo byabyo byonna. 24JER052.018 The caldrons also, and the shovels, and the snuffers, and the bowls, and the spoons, and all the vessels of brass wherewith they ministered, took they away. %%% Era n'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo bye baaweerezanga nabyo ne babitwala. 24JER052.019 And the basons, and the firepans, and the bowls, and the caldrons, and the candlesticks, and the spoons, and the cups; that which was of gold in gold, and that which was of silver in silver, took the captain of the guard away. %%% N'ebikompe n'emmumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obubya; ebyali ebya zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyali ebya ffeeza, mu ffeeza, omukulu w'abambowa bwe yabitwala bw'atyo. 24JER052.020 The two pillars, one sea, and twelve brasen bulls that were under the bases, which king Solomon had made in the house of the LORD: the brass of all these vessels was without weight. %%% Empagi zombi, ennyanja emu, n'ente ennume ez'ebikomo ekkumi n'ebbiri ezaali wansi w'entebe, kabaka Sulemaani bye yakolera ennyumba ya Mukama: ebikomo eby'ebintu ebyo byonna tebyapimika. 24JER052.021 And concerning the pillars, the height of one pillar was eighteen cubits; and a fillet of twelve cubits did compass it; and the thickness thereof was four fingers: it was hollow. %%% N'empagi, obuwanvu bw'empagi emu emikono kkumi na munaana; n'omugwa ogw'emikono kkumi n'ebiri gwagyetooloola; n'obugazi bwayo bwali engalo nnya: yalimu omuwulukwa. 24JER052.022 And a chapiter of brass was upon it; and the height of one chapiter was five cubits, with network and pomegranates upon the chapiters round about, all of brass. The second pillar also and the pomegranates were like unto these. %%% Era yaliko omutwe ogw'ekikomo; n'omutwe gumu obuwanvu bwagwo emikono etaano, omutwe nga guliko ebitimba n'amakomamawanga enjuyi zonna, byonna bya bikomo: n'empagi ey'okubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n'amakomamawanga. 24JER052.023 And there were ninety and six pomegranates on a side; and all the pomegranates upon the network were an hundred round about. %%% Era ku mbiriizi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga; amakomamawanga gonna gaali kikumi ku bitimba enjuyi zonna. 24JER052.024 And the captain of the guard took Seraiah the chief priest, and Zephaniah the second priest, and the three keepers of the door: %%% Awo omukulu w'abambowa n'atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu: 24JER052.025 He took also out of the city an eunuch, which had the charge of the men of war; and seven men of them that were near the king's person, which were found in the city; and the principal scribe of the host, who mustered the people of the land; and threescore men of the people of the land, that were found in the midst of the city. %%% n'aggya mu kibuga omwami eyatwalanga abasajja abalwanyi; n'abasajja musanvu ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka, abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi ow'omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'omu nsi; n'abasajja nkaaga ab'oku bantu ab'omu nsi abaalabika mu kibuga wakati. 24JER052.026 So Nebuzaradan the captain of the guard took them, and brought them to the king of Babylon to Riblah. %%% Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwala n'abaleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula. 24JER052.027 And the king of Babylon smote them, and put them to death in Riblah in the land of Hamath. Thus Judah was carried away captive out of his own land. %%% Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi ey'e Kamasi. Awo Yuda n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye. 24JER052.028 This is the people whom Nebuchadrezzar carried away captive: in the seventh year three thousand Jews and three and twenty: %%% Bano be bantu Nebukadduleeza be yatwala nga basibe: mu mwaka ogw'omusanvu Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu: 24JER052.029 In the eighteenth year of Nebuchadrezzar he carried away captive from Jerusalem eight hundred thirty and two persons: %%% mu mwaka gwa Nebukadduleeza ogw'ekkumi n'omunaana n'atwala nga basibe okubaggya e Yerusaalemi abantu lunaana mu amakumi asatu mu babiri: 24JER052.030 In the three and twentieth year of Nebuchadrezzar Nebuzaradan the captain of the guard carried away captive of the Jews seven hundred forty and five persons: all the persons were four thousand and six hundred. %%% mu mwaka gwa Nebukadduleeza ogw'amakumi abiri mu esatu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala nga basibe ku Bayudaaya abantu lusanvu mu amakumi ana mu bataano: abantu bonna baali enkumi nnya mu lukaaga. 24JER052.031 And it came to pass in the seven and thirtieth year of the captivity of Jehoiachin king of Judah, in the twelfth month, in the five and twentieth day of the month, that Evilmerodach king of Babylon in the first year of his reign lifted up the head of Jehoiachin king of Judah, and brought him forth out of prison, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'amakumi abiri mu ttaano Evirumerodaaki kabaka w'e Babulooni mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, n'amuggya mu kkomera; 24JER052.032 And spake kindly unto him, and set his throne above the throne of the kings that were with him in Babylon, %%% n'ayogera naye eby'ekisa, n'agulumiza entebe ye okusinga entebe za bakabaka abaali awamu naye mu Babulooni. 24JER052.033 And changed his prison garments: and he did continually eat bread before him all the days of his life. %%% N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera, n'aliiranga emmere bulijjo mu maaso ge ennaku zonna ez'obulamu bwe. 24JER052.034 And for his diet, there was a continual diet given him of the king of Babylon, every day a portion until the day of his death, all the days of his life. %%% Era okumuliisanga kabaka w'e Babulooni n'amusalira ebyenkalakkalira, omugabo ogw'oku buli lunaku okutuusa ku lunaku kwe yafiira, ennaku zonna ez'obulamu bwe. 25LAM001.001 How doth the city sit solitary, that was full of people! how is she become as a widow! she that was great among the nations, and princess among the provinces, how is she become tributary! %%% Ekibuga nga kitudde kyokka ekyajjulanga abantu! Nga kifuuse okuba nga nnamwandu! Ekyabanga omukulu mu mawanga, omumbejja mu masaza, Nga kifuuse kya musolo! 25LAM001.002 She weepeth sore in the night, and her tears are on her cheeks: among all her lovers she hath none to comfort her: all her friends have dealt treacherously with her, they are become her enemies. %%% Akaaba nnyo nnyini ekiro n'amaziga ge gali ku matama ge; Mu baganzi be bonna talina n'omu wa kumusanyusa: Mikwano gye gyonna bamukuusakuusizza, Bafuuse abalabe be. 25LAM001.003 Judah is gone into captivity because of affliction, and because of great servitude: she dwelleth among the heathen, she findeth no rest: all her persecutors overtook her between the straits. %%% Yuda agenze mu busibe olw'okubonyaabonyezebwa n'olw'obuddu obuzito; Abeera mu bannaggwanga, talaba kiwummulo: Bonna abamuyigganya bamukwatira wabi. 25LAM001.004 The ways of Zion do mourn, because none come to the solemn feasts: all her gates are desolate: her priests sigh, her virgins are afflicted, and she is in bitterness. %%% Amakubo ga Sayuuni gakaaba, kubanga tewali ajja eri okukuŋŋaana okutukuvu; Emiryango gye gyonna girekeddwawo, bakabona be basinda: Bawala be baliko obuyinike, naye yennyini abalagalwa. 25LAM001.005 Her adversaries are the chief, her enemies prosper; for the LORD hath afflicted her for the multitude of her transgressions: her children are gone into captivity before the enemy. %%% Abalabe be bafuuse omutwe, abamukyawa balabye omukisa; Kubanga Mukama amubonyaabonyezza olw'olufulube lw'ebyonoono bye: Abaana be abato bagenze mu kusibibwa mu maaso g'omulabe. 25LAM001.006 And from the daughter of Zion all her beauty is departed: her princes are become like harts that find no pasture, and they are gone without strength before the pursuer. %%% Era omuwala wa Sayuuni afiiriddwa obukulu bwe bwonna: Abakungu be bafuuse ng'ennangaazi ezitalaba muddo, Era bagenze nga tebalina maanyi mu maaso g'oyo ayigganya. 25LAM001.007 Jerusalem remembered in the days of her affliction and of her miseries all her pleasant things that she had in the days of old, when her people fell into the hand of the enemy, and none did help her: the adversaries saw her, and did mock at her sabbaths. %%% Yerusaalemi ajjukirira mu nnaku ez'okulabiramu ennaku n'obuyinike Ebintu bye byonna ebisanyusa, ebyabangawo okuva mu nnaku ez'edda: Abantu be bwe baagwa mu mukono gw'omulabe, so nga tewali amuyamba, Abalabe baamulaba ne bakudaalira okuziika kwe. 25LAM001.008 Jerusalem hath grievously sinned; therefore she is removed: all that honoured her despise her, because they have seen her nakedness: yea, she sigheth, and turneth backward. %%% Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, kyavudde afuuka ng'ekintu ekitali kirongoofu: Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyoomye, kubanga balabye ensonyize: Weewaawo, assa ekikkowe n'akyuka ennyuma. 25LAM001.009 Her filthiness is in her skirts; she remembereth not her last end; therefore she came down wonderfully: she had no comforter. O LORD, behold my affliction: for the enemy hath magnified himself. %%% Empitambi ye yali mu birenge bye; teyajjukira nkomerero ye ya luvannyuma; Kyavudde akkakkanyizibwa ddala; talina amusanyusa: Ai Mukama, tunuulira okubonyaabonyezebwa kwange; kubanga omulabe yeegulumizizza. 25LAM001.010 The adversary hath spread out his hand upon all her pleasant things: for she hath seen that the heathen entered into her sanctuary, whom thou didst command that they should not enter into thy congregation. %%% Omulabe agolodde omukono gwe ku bintu bye byonna ebisanyusa: Kubanga alabye nga bannaggwanga bayingidde mu kifo kye ekitukuvu. Be walagirako baleme okuyingiranga mu kibiina kyo. 25LAM001.011 All her people sigh, they seek bread; they have given their pleasant things for meat to relieve the soul: see, O LORD, and consider; for I am become vile. %%% Abantu be bonna bassa ebikkowe, banoonya emmere; Bawaddeyo ebintu byabwe ebisanyusa okugula emmere okuweezaweeza emmeeme yaabwe: Tunula, ai Mukama, olabe; kubanga nfuuse ataliiko ky'agasa. 25LAM001.012 Is it nothing to you, all ye that pass by? behold, and see if there be any sorrow like unto my sorrow, which is done unto me, wherewith the LORD hath afflicted me in the day of his fierce anger. %%% Temufaayo, mmwe mwenna abayitawo? Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze, Mukama bw'ambonyaabonyezezza ku lunaku olw'ekiruyi kye. 25LAM001.013 From above hath he sent fire into my bones, and it prevaileth against them: he hath spread a net for my feet, he hath turned me back: he hath made me desolate and faint all the day. %%% Yaweereza omuliro mu magumba gange ng'ayima waggulu, ne gugawangula: Ategedde ebigere byange ekitimba, anzizizza ennyuma, Andeeseeko okuwuubaala n'okuzirika n'okuyongobera okuzibya obudde. 25LAM001.014 The yoke of my transgressions is bound by his hand: they are wreathed, and come up upon my neck: he hath made my strength to fall, the LORD hath delivered me into their hands, from whom I am not able to rise up. %%% Ekikoligo ky'ebyonoono byange omukono gwe gwe gukisibye; Byezinzezinze, birinnye ku nsingo yange; amazeewo amaanyi gange: Mukama angabudde mu mikono gy'abo be siyinza kuyimirira mu maaso gaabwe. 25LAM001.015 The LORD hath trodden under foot all my mighty men in the midst of me: he hath called an assembly against me to crush my young men: the LORD hath trodden the virgin, the daughter of Judah, as in a winepress. %%% Mukama anyoomye abasajja bange bonna ab'amaanyi wakati mu nze; Ankuŋŋaanyirizzaako okukuŋŋaana okutukuvu okubetenta abalenzi bange: Mukama asambye omuwala wa Yuda atamanyi musajja nga mu ssogolero. 25LAM001.016 For these things I weep; mine eye, mine eye runneth down with water, because the comforter that should relieve my soul is far from me: my children are desolate, because the enemy prevailed. %%% Olw'ebyo kyenvudde nkaaba amaziga; eriiso lyange, eriiso lyange likulukuta amazzi; Kubanga omukubagiza eyandisanyusizza emmeeme yange andi wala: Abaana bange balekeddwawo kubanga omulabe awangudde. 25LAM001.017 Zion spreadeth forth her hands, and there is none to comfort her: the LORD hath commanded concerning Jacob, that his adversaries should be round about him: Jerusalem is as a menstruous woman among them. %%% Sayuuni ayanjuluza emikono gye; tewali wa kumukubagiza; Mukama alagidde ebya Yakobo abo abamwetoolodde babeere abalabe be: Yerusaalemi ali mu bo ng'ekintu ekitali kirongoofu. 25LAM001.018 The LORD is righteous; for I have rebelled against his commandment: hear, I pray you, all people, and behold my sorrow: my virgins and my young men are gone into captivity. %%% Mukama mutuukirivu; kubanga njeemedde ekiragiro kye: Muwulire, mbeegayiridde, mmwe amawanga gonna, mulabe obuyinike bwange: Abawala bange n'abalenzi bange bagenze mu busibe. 25LAM001.019 I called for my lovers, but they deceived me: my priests and mine elders gave up the ghost in the city, while they sought their meat to relieve their souls. %%% Nayita baganzi bange, naye ne bannimba: Bakabona bange n'abakadde bange baaweerayo obulamu bwabwe mu kibuga, Nga bwe beenoonyeza emmere okuweezaweeza emmeeme zaabwe. 25LAM001.020 Behold, O LORD; for I am in distress: my bowels are troubled; mine heart is turned within me; for I have grievously rebelled: abroad the sword bereaveth, at home there is as death. %%% Tunula, ai Mukama; kubanga ndi munaku: emmeeme yange yeeraliikiridde; Omutima gwange gukyuse munda yange; kubanga njeemye nnyo nnyini: Ebweru ekitala kinnyaga, mu nju mulimu ng'okufa. 25LAM001.021 They have heard that I sigh: there is none to comfort me: all mine enemies have heard of my trouble; they are glad that thou hast done it: thou wilt bring the day that thou hast called, and they shall be like unto me. %%% Bawulidde nga nzisa ebikkowe; tewali wa kunkubagiza; Abalabe bange bonna bawulidde ennaku ze ndabye; basanyuse kubanga okireese: Olireeta olunaku lwe walangirira, nabo balifaanana nze. 25LAM001.022 Let all their wickedness come before thee; and do unto them, as thou hast done unto me for all my transgressions: for my sighs are many, and my heart is faint. %%% Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go; Era obakole bo nga bw'onkoze nze olw'okusobya kwange kwonna: Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n'omutima gwange guyongobedde. 25LAM002.001 How hath the LORD covered the daughter of Zion with a cloud in his anger, and cast down from heaven unto the earth the beauty of Israel, and remembered not his footstool in the day of his anger! %%% Mukama ng'abisseeko ekire ku muwala wa Sayuuni ng'aliko obusungu! Asudde ku nsi okuva mu ggulu obulungi bwa Isiraeri, So tajjukidde ntebe ya bigere bye ku lunaku olw'obusungu bwe. 25LAM002.002 The LORD hath swallowed up all the habitations of Jacob, and hath not pitied: he hath thrown down in his wrath the strong holds of the daughter of Judah; he hath brought them down to the ground: he hath polluted the kingdom and the princes thereof. %%% Mukama amize ennyumba zonna eza Yakobo, so takwatiddwa kisa; Asudde ebifo eby'amaanyi eby'omuwala wa Yuda olw'obusungu bwe; Abikkakkanyizza okutuuka ku ttaka: Ayonoonye obwakabaka n'abakungu baamu. 25LAM002.003 He hath cut off in his fierce anger all the horn of Israel: he hath drawn back his right hand from before the enemy, and he burned against Jacob like a flaming fire, which devoureth round about. %%% Amazeewo ejjembe lyonna erya Isiraeri ng'aliko ekiruyi; Azzizzaayo omukono gwe ogwa ddyo mu maaso g'omulabe: Era ayokezza Yakobo ng'omuliro ogwaka ennyo, ogwokya enjuyi zonna. 25LAM002.004 He hath bent his bow like an enemy: he stood with his right hand as an adversary, and slew all that were pleasant to the eye in the tabernacle of the daughter of Zion: he poured out his fury like fire. %%% Anaanudde omutego gwe ng'omulabe, ayimiridde n'omukono gwe ogwa ddyo ng'omulabe, Era asse bonna abaasanyusanga amaaso: Mu weema ey'omuwala wa Sayuuni mw'afukidde obusungu bwe ng'omuliro. 25LAM002.005 The LORD was as an enemy: he hath swallowed up Israel, he hath swallowed up all her palaces: he hath destroyed his strong holds, and hath increased in the daughter of Judah mourning and lamentation. %%% Mukama afuuse ng'omulabe, amize Isiraeri: Amize amayumba gaamu gonna, azikirizza ebifo bye eby'amaanyi: Era ayongedde okuwuubaala n'okukungubaga mu muwala wa Yuda. 25LAM002.006 And he hath violently taken away his tabernacle, as if it were of a garden: he hath destroyed his places of the assembly: the LORD hath caused the solemn feasts and sabbaths to be forgotten in Zion, and hath despised in the indignation of his anger the king and the priest. %%% Era aggyeewo eweema ye lwa maanyi, ng'ey'omu lusuku; Azikirizza ekifo kye eky'okukuŋŋaanirangamu: Mukama yeerabizza mu Sayuuni okukuŋŋaana okutukuvu ne ssabbiiti, Era anyoomye kabaka ne kabona olw'okunyiiga kw'obusungu bwe. 25LAM002.007 The LORD hath cast off his altar, he hath abhorred his sanctuary, he hath given up into the hand of the enemy the walls of her palaces; they have made a noise in the house of the LORD, as in the day of a solemn feast. %%% Mukama asudde ekyoto kye, atamiddwa awatukuvu we, Awaddeyo mu mukono gw'omulabe ebisenge by'amayumba gaamu: Bayoogaanidde mu nnyumba ya Mukama, nga ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu. 25LAM002.008 The LORD hath purposed to destroy the wall of the daughter of Zion: he hath stretched out a line, he hath not withdrawn his hand from destroying: therefore he made the rampart and the wall to lament; they languished together. %%% Mukama ateesezza okuzikiriza bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni; Aleeze omugwa, omukono gwe taguzzizzaayo okuleka okuzikiriza: Naye akungubazizza olukomera ne bbugwe; biggweerawo wamu. 25LAM002.009 Her gates are sunk into the ground; he hath destroyed and broken her bars: her king and her princes are among the Gentiles: the law is no more; her prophets also find no vision from the LORD. %%% Emiryango gye gibulidde mu ttaka; azikirizza amenye ebisiba bye: Kabaka we n'abakungu be bali mu mawanga eteri mateeka; Weewaawo, banaabbi be tebalaba kwolesebwa okuvudde eri Mukama. 25LAM002.010 The elders of the daughter of Zion sit upon the ground, and keep silence: they have cast up dust upon their heads; they have girded themselves with sackcloth: the virgins of Jerusalem hang down their heads to the ground. %%% Abakadde ab'omuwala wa Sayuuni batudde ku ttaka, basirise; Batadde enfuufu ku mitwe gyabwe; beesibye ebibukutu: Abawala ba Yerusaalemi bakoteka emitwe. 25LAM002.011 Mine eyes do fail with tears, my bowels are troubled, my liver is poured upon the earth, for the destruction of the daughter of my people; because the children and the sucklings swoon in the streets of the city. %%% Amaaso gange gaziba olw'amaziga, emmeeme yange yeeraliikiridde, Ekibumba kyange kifukiddwa ku ttaka olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange; Kubanga abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo ez'omu kibuga. 25LAM002.012 They say to their mothers, Where is corn and wine? when they swooned as the wounded in the streets of the city, when their soul was poured out into their mothers' bosom. %%% Bagamba bannyaabwe nti Eŋŋaano n'omwenge biri ludda wa? Bwe bazirikira ng'abaliko ebiwundu mu nguudo ez'omu kibuga, Emmeeme yaabwe bw'efukibwa mu kifuba kya bannyaabwe. 25LAM002.013 What thing shall I take to witness for thee? what thing shall I liken to thee, O daughter of Jerusalem? what shall I equal to thee, that I may comfort thee, O virgin daughter of Zion? for thy breach is great like the sea: who can heal thee? %%% Kiki kye nnaakutegeeza nga ndi mujulirwa gy'oli? kiki kye nnaafaananya naawe, ai omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnenkanya naawe, nkusanyuse, ai omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja? Kubanga ekituli kyo kinene ng'ennyanja: ani ayinza okukuwonya? 25LAM002.014 Thy prophets have seen vain and foolish things for thee: and they have not discovered thine iniquity, to turn away thy captivity; but have seen for thee false burdens and causes of banishment. %%% Bannabbi bo bakulabidde okwolesebwa okutaliimu okw'obusirusiru; So tebakunnyonnyodde obutali butuukirivu bwo, okukomyawo obusibe bwo: Naye bakulabidde emigugu egitaliimu n'ensonga ez'okugobebwa. 25LAM002.015 All that pass by clap their hands at thee; they hiss and wag their head at the daughter of Jerusalem, saying, Is this the city that men call The perfection of beauty, The joy of the whole earth? %%% Bonna abayitawo bakukubira mu ngalo; Basooza ne banyeenyereza omutwe gwabwe omuwala wa Yerusaalemi nga boogera nti Kino kye kibuga abantu kye baayitanga nti Obulungi obw'Abatuukirira, Essanyu ery'ensi zonna? 25LAM002.016 All thine enemies have opened their mouth against thee: they hiss and gnash the teeth: they say, We have swallowed her up: certainly this is the day that we looked for; we have found, we have seen it. %%% Abalabe bo bonna bakwasamidde nnyo akamwa kaabwe; Basooza ne baluma obujigi; boogera nti Tumumize; Mazima luno lwe lunaku lwe twasuubira; tulusanze, tululabye. 25LAM002.017 The LORD hath done that which he had devised; he hath fulfilled his word that he had commanded in the days of old: he hath thrown down, and hath not pitied: and he hath caused thine enemy to rejoice over thee, he hath set up the horn of thine adversaries. %%% Mukama akoze ekyo kye yateesa; Atuukirizza ekigambo kye kye yalagira mu nnaku ez'edda; Asudde so tasaasidde: Era awadde omulabe okukusanyukirako, Agulumizizza ejjembe ly'abo abakukyawa. 25LAM002.018 Their heart cried unto the LORD, O wall of the daughter of Zion, let tears run down like a river day and night: give thyself no rest; let not the apple of thine eye cease. %%% Omutima gwabwe gwakaabira Mukama: Ai bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni, amaziga gakulukute ng'omugga emisana n'ekiro; Teweewummuza n'akatono; emmunye y'eriiso lyo terekangayo. 25LAM002.019 Arise, cry out in the night: in the beginning of the watches pour out thine heart like water before the face of the LORD: lift up thy hands toward him for the life of thy young children, that faint for hunger in the top of every street. %%% Golokoka, okaabe ekiro ebisisimuka we bisookera; Fuka omutima gwo ng'amazzi mu maaso ga Mukama: Yimusa emikono gyo gy'ali olw'obulamu bw'abaana bo abato, Abaagala okufa enjala buli luguudo we lusibuka. 25LAM002.020 Behold, O LORD, and consider to whom thou hast done this. Shall the women eat their fruit, and children of a span long? shall the priest and the prophet be slain in the sanctuary of the Lord? %%% Tunula, ai Mukama, olabe bw'ali gw'okoze bw'otyo Abakazi balirya ebibala byabwe, abaana ababuusibwabuusibwa mu mikono gyabwe? Kabona ne nnabbi balittirwa mu kifo ekitukuvu ekya Mukama 25LAM002.021 The young and the old lie on the ground in the streets: my virgins and my young men are fallen by the sword; thou hast slain them in the day of thine anger; thou hast killed, and not pitied. %%% Omulenzi n'omukadde bagalamidde ku ttaka mu nguudo; Abawala bange n'abalenzi bange bagudde n'ekitala: Obattidde ku lunaku olw'obusungu bwo; osse so tosaasidde. 25LAM002.022 Thou hast called as in a solemn day my terrors round about, so that in the day of the LORD's anger none escaped nor remained: those that I have swaddled and brought up hath mine enemy consumed. %%% Oyise entiisa zange okukuŋŋaana okuva enjuyi zonna nga ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, So tewali eyawona newakubadde eyasigalawo ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama: Abo be nnabuusabuusa n'endera omulabe wange abamazeewo. 25LAM003.001 I AM the man that hath seen affliction by the rod of his wrath. %%% Nze ndi muntu oyo eyalaba ennaku olw'omuggo ogw'obusungu bwe. 25LAM003.002 He hath led me, and brought me into darkness, but not into light. %%% Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana. 25LAM003.003 Surely against me is he turned; he turneth his hand against me all the day. %%% Mazima tata kundeetako mukono gwe okuzibya obudde. 25LAM003.004 My flesh and my skin hath he made old; he hath broken my bones. %%% Omubiri gwange n'eddiba lyange abikadiyizza; amenye amagumba gange. 25LAM003.005 He hath builded against me, and compassed me with gall and travail. %%% Anzimbiddeko n'anneetoolooza omususa n'okulumwa. 25LAM003.006 He hath set me in dark places, as they that be dead of old. %%% Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda. 25LAM003.007 He hath hedged me about, that I cannot get out: he hath made my chain heavy. %%% Ankomedde n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyezza olujegere lwange. 25LAM003.008 Also when I cry and shout, he shutteth out my prayer. %%% Weewaawo, bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange. 25LAM003.009 He hath inclosed my ways with hewn stone, he hath made my paths crooked. %%% Akomedde amakubo gange n'amayinja amateme, akyamizza empitiro zange. 25LAM003.010 He was unto me as a bear lying in wait, and as a lion in secret places. %%% Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama. 25LAM003.011 He hath turned aside my ways, and pulled me in pieces: he hath made me desolate. %%% Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; ansamaalirizza. 25LAM003.012 He hath bent his bow, and set me as a mark for the arrow. %%% Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale. 25LAM003.013 He hath caused the arrows of his quiver to enter into my reins. %%% Ayingizizza mu mmeeme yange ebiri mu mufuko gwe. 25LAM003.014 I was a derision to all my people; and their song all the day. %%% Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde. 25LAM003.015 He hath filled me with bitterness, he hath made me drunken with wormwood. %%% Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza abusinso, 25LAM003.016 He hath also broken my teeth with gravel stones, he hath covered me with ashes. %%% Era amenye amannyo gange n'oluyinjayinja, ambisseeko evvu. 25LAM003.017 And thou hast removed my soul far off from peace: I forgat prosperity. %%% Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabira omukisa bwe gufaanana. 25LAM003.018 And I said, My strength and my hope is perished from the LORD: %%% Ne njogera nti Amaanyi gabuze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama. 25LAM003.019 Remembering mine affliction and my misery, the wormwood and the gall. %%% Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa. 25LAM003.020 My soul hath them still in remembrance, and is humbled in me. %%% Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye mu nda yange. 25LAM003.021 This I recall to my mind, therefore have I hope. %%% Nkijjukira ekyo, kyenvudde mbeera n'okusuubira. 25LAM003.022 It is of the LORD's mercies that we are not consumed, because his compassions fail not. %%% Kwe kusaasira kwa Mukama ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. 25LAM003.023 They are new every morning: great is thy faithfulness. %%% Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi. 25LAM003.024 The LORD is my portion, saith my soul; therefore will I hope in him. %%% Mukama gwe mugabo gwange, emmeeme yange bw'eyogera; kyennaava mmusuubira. 25LAM003.025 The LORD is good unto them that wait for him, to the soul that seeketh him. %%% Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. 25LAM003.026 It is good that a man should both hope and quietly wait for the salvation of the LORD. %%% Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'ateredde. 25LAM003.027 It is good for a man that he bear the yoke in his youth. %%% Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe. 25LAM003.028 He sitteth alone and keepeth silence, because he hath borne it upon him. %%% Atuule yekka asirike, kubanga akimutaddeko. 25LAM003.029 He putteth his mouth in the dust; if so be there may be hope. %%% Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira. 25LAM003.030 He giveth his cheek to him that smiteth him: he is filled full with reproach. %%% Awe ettama lye eri oyo amukuba; akkute okuvumibwa. 25LAM003.031 For the LORD will not cast off for ever: %%% Kubanga Mukama talisuula ennaku zonna. 25LAM003.032 But though he cause grief, yet will he have compassion according to the multitude of his mercies. %%% Kuba newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa ng'olufulube lw'okusaasira kwe bwe luli. 25LAM003.033 For he doth not afflict willingly nor grieve the children of men. %%% Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okuluma abaana b'abantu. 25LAM003.034 To crush under his feet all the prisoners of the earth, %%% Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi, 25LAM003.035 To turn aside the right of a man before the face of the most High, %%% Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo, 25LAM003.036 To subvert a man in his cause, the LORD approveth not. %%% N'okulya ensonga, ebyo Mukama tabisiima. 25LAM003.037 Who is he that saith, and it cometh to pass, when the Lord commandeth it not? %%% Ani oyo ayogera ne kituukirira, Mukama nga takiragidde? 25LAM003.038 Out of the mouth of the most High proceedeth not evil and good? %%% Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo temuvaamu ebibi n'ebirungi? 25LAM003.039 Wherefore doth a living man complain, a man for the punishment of his sins? %%% Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu olw'okubonerezebwa olw'ebibi bye? 25LAM003.040 Let us search and try our ways, and turn again to the LORD. %%% Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama. 25LAM003.041 Let us lift up our heart with our hands unto God in the heavens. %%% Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'engalo zaffe eri Katonda mu gulu. 25LAM003.042 We have transgressed and have rebelled: thou hast not pardoned. %%% Tusobezza era tujeemye; tosonyiye. 25LAM003.043 Thou hast covered with anger, and persecuted us: thou hast slain, thou hast not pitied. %%% Otubisseeko obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde. 25LAM003.044 Thou hast covered thyself with a cloud, that our prayer should not pass through. %%% Weebisseeko ekire, okusaba kwafe kuleme okugguka okutuukayo. 25LAM003.045 Thou hast made us as the offscouring and refuse in the midst of the people. %%% Otufudde ng'empitambi n'ebisasiro wakati mu mawanga. 25LAM003.046 All our enemies have opened their mouths against us. %%% Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe. 25LAM003.047 Fear and a snare is come upon us, desolation and destruction. %%% Entiisa n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira. 25LAM003.048 Mine eye runneth down with rivers of water for the destruction of the daughter of my people. %%% Eriiso lyange likulukuta emigga egy'amazzi olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange. 25LAM003.049 Mine eye trickleth down, and ceaseth not, without any intermission, %%% Eriiso lyange litonnya, terirekaayo, terita n'akatono, 25LAM003.050 Till the LORD look down, and behold from heaven. %%% Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'ayima mu ggulu. 25LAM003.051 Mine eye affecteth mine heart because of all the daughters of my city. %%% Eriiso lyange linakuwaza emmeeme yange olw'abawala bonna ab'ekibuga kyange. 25LAM003.052 Mine enemies chased me sore, like a bird, without cause. %%% Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi, ababa abalabe bange awatali nsonga. 25LAM003.053 They have cut off my life in the dungeon, and cast a stone upon me. %%% Bamazeewo obulamu bwange mu nju ey'obunnya, era bansuddeko ejjinja. 25LAM003.054 Waters flowed over mine head; then I said, I am cut off. %%% Amazzi gaakulukuta ku mutwe gwange; ne njogera nti Mmaliddwawo. 25LAM003.055 I called upon thy name, O LORD, out of the low dungeon. %%% Nakaabira erinnya lyo, ai Mukama, nga nnyima mu nju ey'obunnya eya wansi ennyo. 25LAM003.056 Thou hast heard my voice: hide not thine ear at my breathing, at my cry. %%% N'owulira eddoboozi lyange; tokisa kutu kwo kussa mukka kwange, okukaaba kwange. 25LAM003.057 Thou drewest near in the day that I called upon thee: thou saidst, Fear not. %%% Wasembera ku lunaku kwe nnakukaabirira: n'oyogera nti Totya. 25LAM003.058 O LORD, thou hast pleaded the causes of my soul; thou hast redeemed my life. %%% Ai Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange. 25LAM003.059 O LORD, thou hast seen my wrong: judge thou my cause. %%% Ai Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango. 25LAM003.060 Thou hast seen all their vengeance and all their imaginations against me. %%% Olabye eggwanga lyonna lye bawalana, n'enkwe zonna ze bansalira. 25LAM003.061 Thou hast heard their reproach, O LORD, and all their imaginations against me; %%% Owulidde okuvuma kwabwe, ai Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira; 25LAM003.062 The lips of those that rose up against me, and their device against me all the day. %%% Emimwa gy'abo abangolokokerako n'ebyo bye bandowoolezaako okuzibya obudde. 25LAM003.063 Behold their sitting down, and their rising up; I am their musick. %%% Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe, 25LAM003.064 Render unto them a recompence, O LORD, according to the work of their hands. %%% Olibasasula empeera, ai Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe. 25LAM003.065 Give them sorrow of heart, thy curse unto them. %%% Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo eri bo. 25LAM003.066 Persecute and destroy them in anger from under the heavens of the LORD. %%% Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama. 25LAM004.001 How is the gold become dim! how is the most fine gold changed! the stones of the sanctuary are poured out in the top of every street. %%% Zaabu ng'eyonoonese! zaabu ennungi ennyo nnyini nga efuuse! Amayinja ag'omu kifo ekitukuvu gafukibwa buli luguudo we lusibuka. 25LAM004.002 The precious sons of Zion, comparable to fine gold, how are they esteemed as earthen pitchers, the work of the hands of the potter! %%% Batabani ba Sayuuni ab'omuwendo omungi, abenkana zaabu ennungi, Nga bayitiddwa nsuwa za bbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi! 25LAM004.003 Even the sea monsters draw out the breast, they give suck to their young ones: the daughter of my people is become cruel, like the ostriches in the wilderness. %%% Era n'emisege giggyayo amabeere, giyonsa abaana baagyo: Omuwala w'abantu bange afuuse mukambwe nga bamaaya mu ddungu. 25LAM004.004 The tongue of the sucking child cleaveth to the roof of his mouth for thirst: the young children ask bread, and no man breaketh it unto them. %%% Olulimi lw'omwana ayonka lwegasse n'ekibuno kye olw'ennyonta: Abaana abato basaba emmere, so tewali abagibegera. 25LAM004.005 They that did feed delicately are desolate in the streets: they that were brought up in scarlet embrace dunghills. %%% Abaalyanga nga beenaanya bawuubaalira mu nguudo: Abaakulira mu ngoye entwakaavu bawambaatira mmungo, 25LAM004.006 For the punishment of the iniquity of the daughter of my people is greater than the punishment of the sin of Sodom, that was overthrown as in a moment, and no hands stayed on her. %%% Kubanga obutali butuukirivu bw'omuwala w'abantu bange businga obunene ekibi kya Sodomu, Ekyasuulibwa nga mu kaseera, so tewali eyakissaako omukono. 25LAM004.007 Her Nazarites were purer than snow, they were whiter than milk, they were more ruddy in body than rubies, their polishing was of sapphire: %%% Abakungu baali balongoofu okusinga omuzira, baali beeru okusinga amata, Emibiri gyabwe gyasinga amayinja amatwakaavu okumyuka, baali banyirivu nga safiro: 25LAM004.008 Their visage is blacker than a coal; they are not known in the streets: their skin cleaveth to their bones; it is withered, it is become like a stick. %%% Amaaso gaabwe gaasinga ekisiriiza okuddugala; tebaamanyibwa mu nguudo: Eddiba lyabwe lyegasse n'amagumba gaabwe; likaze, lifuuse ng'omuggo. 25LAM004.009 They that be slain with the sword are better than they that be slain with hunger: for these pine away, stricken through for want of the fruits of the field. %%% Abattiddwa n'ekitala basinga abo abafudde enjala; Kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa olw'okubulwa ebibala eby'omu nnimiro. 25LAM004.010 The hands of the pitiful women have sodden their own children: they were their meat in the destruction of the daughter of my people. %%% Abakazi ab'okusaasira okungi bafumbye abaana baabwe bo n'emikono gyabwe bo; Baabanga ba kulya gye bali mu kuzikirira kw'omuwala w'abantu bange. 25LAM004.011 The LORD hath accomplished his fury; he hath poured out his fierce anger, and hath kindled a fire in Zion, and it hath devoured the foundations thereof. %%% Mukama atuukirizza ekiruyi kye, era afukidde ddala obusungu bwe obukambwe; Era akumye omuliro mu Sayuuni ogwokezza emisingi gyakyo. 25LAM004.012 The kings of the earth, and all the inhabitants of the world, would not have believed that the adversary and the enemy should have entered into the gates of Jerusalem. %%% Bakabaka b'ensi tebakkiriza, newakubadde bonna abatuula mu nsi zonna, Ng'omulabe n'oyo abakyawa agenda okuyingira mu miryango gy'e Yerusaalemi. 25LAM004.013 For the sins of her prophets, and the iniquities of her priests, that have shed the blood of the just in the midst of her, %%% Lwa bibi bya bannabbi baamu n'obutali butuukirivu bwa bakabona baamu, Abaayiwa omusaayi gw'abatuukirivu wakati mu kyo. 25LAM004.014 They have wandered as blind men in the streets, they have polluted themselves with blood, so that men could not touch their garments. %%% Bawaba ng'abazibe b'amaaso mu nguudo, boonoonese n'omusaayi, N'okuyinza abantu ne batayinza kukoma ku byambalo byabwe. 25LAM004.015 They cried unto them, Depart ye; it is unclean; depart, depart, touch not: when they fled away and wandered, they said among the heathen, They shall no more sojourn there. %%% Muveewo, bwe baabalangira, nti Ekitali kirongoofu muveewo, muveewo, temukomako: Bwe badduka ne bawaba, abantu ne boogera mu mawanga nti Tebakyabeera wano nate. 25LAM004.016 The anger of the LORD hath divided them; he will no more regard them: they respected not the persons of the priests, they favoured not the elders. %%% Obusungu bwa Mukama bubasaasaanyizza; takyassaayo mwoyo eri bo: Tebatya maaso ga bakabona, tebaganza bakadde. 25LAM004.017 As for us, our eyes as yet failed for our vain help: in our watching we have watched for a nation that could not save us. %%% Amaaso gaffe gakyaziba nga tutunuulira okubeerwa kwaffe okutaliiko kye kugasa: Bwe twalindirira twalindirira eggwanga eritayinza kulokola. 25LAM004.018 They hunt our steps, that we cannot go in our streets: our end is near, our days are fulfilled; for our end is come. %%% Bacocca ebisinde byaffe, n'okuyinza ne tutayinza kutambulira mu nguudo zaffe: Enkomerero yaffe eneetera kutuuka, ennaku zaffe zituukiridde; kubanga enkomerero yaffe etuuse. 25LAM004.019 Our persecutors are swifter than the eagles of the heaven: they pursued us upon the mountains, they laid wait for us in the wilderness. %%% Abatuyigganya basinga embiro empungu ez'omu bbanga: Batucoccera ku nsozi, baatuteegera mu ddungu. 25LAM004.020 The breath of our nostrils, the anointed of the LORD, was taken in their pits, of whom we said, Under his shadow we shall live among the heathen. %%% Omukka ogw'omu nnyindo zaffe, oyo Mukama gwe yafukako amafuta, yakwatibwa mu bunnya bwabwe; Gwe twayogerako nti Tulituula mu mawanga wansi w'ekisiikirize ky'oyo. 25LAM004.021 Rejoice and be glad, O daughter of Edom, that dwellest in the land of Uz; the cup also shall pass through unto thee: thou shalt be drunken, and shalt make thyself naked. %%% Sanyuka ojaguze, ai omuwala wa Edomu abeera mu nsi ya Uzi: Ekikompe kirigguka kirituuka ne ku ggwe; olitamiira ne weebikkula. 25LAM004.022 The punishment of thine iniquity is accomplished, O daughter of Zion; he will no more carry thee away into captivity: he will visit thine iniquity, O daughter of Edom; he will discover thy sins. %%% Okubonereza obutali butuukirivu bwo kutuukiridde, ai omuwala wa Sayuuni; Takyakutwala nate mu busibe: Alibonereza obutali butuukiriw bwo, ai omuwala wa Edomu; Alikunnyonnyola ebibi byo. 25LAM005.001 Remember, O LORD, what is come upon us: consider, and behold our reproach. %%% Jjukira, ai Mukama, ebitujjidde: Tunula olabe okuvumibwa kwaffe. 25LAM005.002 Our inheritance is turned to strangers, our houses to aliens. %%% Obusika bwaffe bukyuse okuba obw'abanaggwanga, Ennyumba zaffe okuba ez'abatali ba muno. 25LAM005.003 We are orphans and fatherless, our mothers are as widows. %%% Tuli bamulekwa, so tetulina bakitaffe, Bannyaffe bali nga bannamwandu. 25LAM005.004 We have drunken our water for money; our wood is sold unto us. %%% Tunywedde amazzi gaffe lwa bintu; Enku zaffe bazituguza. 25LAM005.005 Our necks are under persecution: we labour, and have no rest. %%% Abatucocca batuuse ku nsingo zaffe: Tukooye so tetulina kiwummulo. 25LAM005.006 We have given the hand to the Egyptians, and to the Assyrians, to be satisfied with bread. %%% Tubagololedde Abamisiri emikono, N'Abasuuli olw'okukkuta emmere. 25LAM005.007 Our fathers have sinned, and are not; and we have borne their iniquities. %%% Bakitaffe baayonoona so tebaliiwo; Naffe twetisse obutali butuukirivu bwabwe. 25LAM005.008 Servants have ruled over us: there is none that doth deliver us out of their hand. %%% Abaddu batufuga: Tewali wa kutulokola mu mukono gwabwe. 25LAM005.009 We gat our bread with the peril of our lives because of the sword of the wilderness. %%% Tufuna emmere yaffe lwa kusingawo bulamu bwaffe Olw'ekitala eky'omu ddungu. 25LAM005.010 Our skin was black like an oven because of the terrible famine. %%% Eddiba lyaffe liddugadde ng'akabiga. Olw'olubugumu olw'enjala olwokya. 25LAM005.011 They ravished the women in Zion, and the maids in the cities of Judah. %%% Baakwatira abakazi mu Sayuuni, Abawala abatamanyi musajja mu bibuga bya Yuda. 25LAM005.012 Princes are hanged up by their hand: the faces of elders were not honoured. %%% Abakungu baawanikibwa n'omukono gwabwe: Amaaso g'abakadde tebaagassaamu kitiibwa. 25LAM005.013 They took the young men to grind, and the children fell under the wood. %%% Abalenzi baasitula olubengo, N'abaana abato beesittala nga beetikka enku. 25LAM005.014 The elders have ceased from the gate, the young men from their musick. %%% Abakadde baweddewo mu mulyango Abalenzi baleseeyo okuyimba kwabwe. 25LAM005.015 The joy of our heart is ceased; our dance is turned into mourning. %%% Essanyu ery'omu mutima gwaffe likomye: Okuzina kwaffe kufuuse okuwuubaala. 25LAM005.016 The crown is fallen from our head: woe unto us, that we have sinned! %%% Engule egudde evudde ku mutwe gwaffe: Zitusanze kubanga twonoonye. 25LAM005.017 For this our heart is faint; for these things our eyes are dim. %%% Omutima gwaffe kyeguvudde guyongobera; Olw'ebyo amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala; 25LAM005.018 Because of the mountain of Zion, which is desolate, the foxes walk upon it. %%% Olw'olusozi lwa Sayuuni, olulekeddwawo; Ebibe bitambulira okwo. 25LAM005.019 Thou, O LORD, remainest for ever; thy throne from generation to generation. %%% Ggwe, ai Mukama, obeerera ennaku zonna; Entebe yo ebaawo okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna. 25LAM005.020 Wherefore dost thou forget us for ever, and forsake us so long time? %%% Lwaki okutwerabira ennaku zonna, N'otuleka ebiro ebyenkanidde wano? 25LAM005.021 Turn thou us unto thee, O LORD, and we shall be turned; renew our days as of old. %%% Tukyuse gy'oli, ai Mukama, naffe tunaakyusibwa; Ennaku zaffe ozizze buggya ng'edda. 25LAM005.022 But thou hast utterly rejected us; thou art very wroth against us. %%% Naye otusuulidde ddala, Otusunguwalidde nnyo. 26EZE001.001 Now it came to pass in the thirtieth year, in the fourth month, in the fifth day of the month, as I was among the captives by the river of Chebar, that the heavens were opened, and I saw visions of God. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano, bwe nnali ndi mu basibe ku mabbali g'omugga Kebali, eggulu ne libikkulibwa, ne ndaba okwolesebwa kwa Katonda. 26EZE001.002 In the fifth day of the month, which was the fifth year of king Jehoiachin's captivity, %%% Ku lunaku olw'okutaano olw'omwezi, gwe gwali omwaka ogw'okutaano ogw'okusibibwa kwa kabaka Yekoyakini, 26EZE001.003 The word of the LORD came expressly unto Ezekiel the priest, the son of Buzi, in the land of the Chaldeans by the river Chebar; and the hand of the LORD was there upon him. %%% ekigambo kya Mukama ne kijjirira ddala Ezeekyeri kabona mutabani wa Buuzi mu nsi ey'Abakaludaaya ku mabbali g'omugga Kebali; omukono gwa Mukama ne gubeera ku ye eyo. 26EZE001.004 And I looked, and, behold, a whirlwind came out of the north, a great cloud, and a fire infolding itself, and a brightness was about it, and out of the midst thereof as the colour of amber, out of the midst of the fire. %%% Awo ne ntunula, era, laba, embuyaga ezikunta olw'amaanyi ne zifuluma obukiika obwa kkono, ekire ekinene n'omuliro ogw'ezingazinga n'okumasamasa okukyetoolodde, era mu gwo wakati ne muva ng'ebbala erya zaabu etabuddwamu effeeza, eriva mu muliro wakati. 26EZE001.005 Also out of the midst thereof came the likeness of four living creatures. And this was their appearance; they had the likeness of a man. %%% Era mu gwo wakati ne muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. N'embala yaabyo yali bw'eti; byalina ekifaananyi eky'omuntu. 26EZE001.006 And every one had four faces, and every one had four wings. %%% Era buli kimu kyalina obwenyi buna, era buli kimu ku byo kyalina ebiwaawaatiro bina. 26EZE001.007 And their feet were straight feet; and the sole of their feet was like the sole of a calf's foot: and they sparkled like the colour of burnished brass. %%% N'ebigere byabyo byali bigere bigolokofu; ne munda w'ebigere byabyo nga mufaanana munda w'ekigere ky'ennyana: era nga bitangalijja ng'ebbala ery'ekikomo ekizigule. 26EZE001.008 And they had the hands of a man under their wings on their four sides; and they four had their faces and their wings. %%% Era byalina emikono gy'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabyo ku mbiriizi zaabyo ennya: era ebyo ebina byalina obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo bwe biti; 26EZE001.009 Their wings were joined one to another; they turned not when they went; they went every one straight forward. %%% ebiwaawaatiro byabyo byagattibwa buli kiwaawaatiro ne kinnaakyo; tebyakyuka bwe byatambula; byagenda buli kimu nga byesimbye. 26EZE001.010 As for the likeness of their faces, they four had the face of a man, and the face of a lion, on the right side: and they four had the face of an ox on the left side; they four also had the face of an eagle. %%% Ekifaananyi ky'obwenyi bwabyo, byalina obwenyi bw'omuntu; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'empologoma ku lubiriizi olwa ddyo; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'ente ku lubiriizi olwa kkono; ebyo byonna byalina n'obwenyi bw'empungu. 26EZE001.011 Thus were their faces: and their wings were stretched upward; two wings of every one were joined one to another, and two covered their bodies. %%% N'obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo byali nga byawuse waggulu; ebiwaawaatiro bibiri ebya buli kimu byagattibwa wamu, n'ebibiri byasaanikira emibiri gyabyo. 26EZE001.012 And they went every one straight forward: whither the spirit was to go, they went; and they turned not when they went. %%% Era buli kimu byagenda nga byesimbye: omwoyo gye gwabanga gugenda, gye byagenda; tebyakyuka bwe byagenda. 26EZE001.013 As for the likeness of the living creatures, their appearance was like burning coals of fire, and like the appearance of lamps: it went up and down among the living creatures; and the fire was bright, and out of the fire went forth lightning. %%% Ekifaananyi ky'ebiramu ebyo, embala yaabyo yali ng'ebisiriiza eby'omuliro ebyaka, ng'embala ey'emimuli; yayambukanga n'ekkira wakati mu biramu ebyo: era omuliro nga gumasamasa ne mu muliro ne muva enjota. 26EZE001.014 And the living creatures ran and returned as the appearance of a flash of lightning. %%% Ebiramu ne biddukana mbiro ne bikomawo ng'ekifaananyi eky'okumyansa kw'eggulu. 26EZE001.015 Now as I beheld the living creatures, behold one wheel upon the earth by the living creatures, with his four faces. %%% Awo bwe nnali nga ntunuulira ebiramu ebyo, laba, nnamuziga ku ttaka ku mabbali g'ebiramu, buli bwenyi ku bwenyi bwabyo obuna nnamuziga omu. 26EZE001.016 The appearance of the wheels and their work was like unto the colour of a beryl: and they four had one likeness: and their appearance and their work was as it were a wheel in the middle of a wheel. %%% Embala eya bannamuziga n'omulimu gwabwe baafaanana ebbala erya berulo: era abo abana baalina ekifaananyi kimu: n'embala yaabwe n'omulimu gwabwe byali nga nnamuziga ali wakati wa nnamuziga. 26EZE001.017 When they went, they went upon their four sides: and they turned not when they went. %%% Bwe baatambulanga baatambuliranga ku mbiriizi zaabwe ennya: tebaakyuka bwe baatambula. 26EZE001.018 As for their rings, they were so high that they were dreadful; and their rings were full of eyes round about them four. %%% Obwekulungirivu bwabwe bwali buwanvu, bwa ntiisa; era abo abana baalina obwekulungirivu bwabwe nga bujjudde amaaso enjuyi zonna. 26EZE001.019 And when the living creatures went, the wheels went by them: and when the living creatures were lifted up from the earth, the wheels were lifted up. %%% Era ebiramu bwe byatambulanga, bannamuziga baatambuliranga ku mabbali gaabyo: era ebiramu bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga. 26EZE001.020 Whithersoever the spirit was to go, they went, thither was their spirit to go; and the wheels were lifted up over against them: for the spirit of the living creature was in the wheels. %%% Omwoyo buli gye gwabanga gugenda, gye baagendanga; eyo omwoyo gye gwabanga gugenda: ne bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo; kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga. 26EZE001.021 When those went, these went; and when those stood, these stood; and when those were lifted up from the earth, the wheels were lifted up over against them: for the spirit of the living creature was in the wheels. %%% Ebyo bwe byatambulanga, ne bano baatambulanga; era ebyo bwe byayimiriranga, ne bano baayimiriranga; era ebyo bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo: kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga. 26EZE001.022 And the likeness of the firmament upon the heads of the living creature was as the colour of the terrible crystal, stretched forth over their heads above. %%% Era waggulu w'omutwe ogw'ekiramu waaliwo ekifaananyi eky'ebbanga, ng'ebbala erya kulusitalo ow'entiisa, nga kitimbibwa ku mitwe gyabyo waggulu. 26EZE001.023 And under the firmament were their wings straight, the one toward the other: every one had two, which covered on this side, and every one had two, which covered on that side, their bodies. %%% Era wansi w'ebbanga ebiwaawaatiro byabyo byali bigolokofu, ekimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi, na buli kimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi ku mibiri gyabyo. 26EZE001.024 And when they went, I heard the noise of their wings, like the noise of great waters, as the voice of the Almighty, the voice of speech, as the noise of an host: when they stood, they let down their wings. %%% Era bwe byatambulanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonna, okuwuuma okw'oluyoogaano ng'okuwuuma kw'eggye: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. 26EZE001.025 And there was a voice from the firmament that was over their heads, when they stood, and had let down their wings. %%% Era waaliwo eddoboozi waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. 26EZE001.026 And above the firmament that was over their heads was the likeness of a throne, as the appearance of a sapphire stone: and upon the likeness of the throne was the likeness as the appearance of a man above upon it. %%% Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo kwaliko ekifaananyi eky'entebe, ng'embala ey'ejjinja eya safiro: ne ku kifaananyi eky'entebe kwaliko ekifaananyi ng'embala ey'omuntu ku yo waggulu. 26EZE001.027 And I saw as the colour of amber, as the appearance of fire round about within it, from the appearance of his loins even upward, and from the appearance of his loins even downward, I saw as it were the appearance of fire, and it had brightness round about. %%% Ne ndaba ng'ebbala ery'ezaabu etabuddwamu effeeza, ng'embala ey'omuliro munda mu yo enjuyi zonna, okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okwambuka; era okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okukka, nalaba ng'embala ey'omuliro, era waaliwo okumasamasa okumwetoolodde. 26EZE001.028 As the appearance of the bow that is in the cloud in the day of rain, so was the appearance of the brightness round about. This was the appearance of the likeness of the glory of the LORD. And when I saw it, I fell upon my face, and I heard a voice of one that spake. %%% Ng'embala eya musoke aba ku kire ku lunaku olw'enkuba, bw'etyo bwe yali embala ey'okumasamasa enjuyi zonna. Eno ye yali embala ey'ekifaananyi eky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nnakiraba, ne nvuunama amaaso gange, ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera. 26EZE002.001 And he said unto me, Son of man, stand upon thy feet, and I will speak unto thee. %%% N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimirira ku bigere bye nange naayogera naawe. 26EZE002.002 And the spirit entered into me when he spake unto me, and set me upon my feet, that I heard him that spake unto me. %%% Kale omwoyo ne guyingira mu nze bwe yayogera nange, ne gunnyimiriza ku bigere byange; ne mpulira oyo eyayogera nange. 26EZE002.003 And he said unto me, Son of man, I send thee to the children of Israel, to a rebellious nation that hath rebelled against me: they and their fathers have transgressed against me, even unto this very day. %%% N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga okutuukira ddala ku lunaku olwa leero. 26EZE002.004 For they are impudent children and stiffhearted. I do send thee unto them; and thou shalt say unto them, Thus saith the Lord GOD. %%% N'abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE002.005 And they, whether they will hear, or whether they will forbear, (for they are a rebellious house,) yet shall know that there hath been a prophet among them. %%% Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo, (kubanga nnyumba njeemu era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi. 26EZE002.006 And thou, son of man, be not afraid of them, neither be afraid of their words, though briers and thorns be with thee, and thou dost dwell among scorpions: be not afraid of their words, nor be dismayed at their looks, though they be a rebellious house. %%% Naawe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga biri naawe, era ng'obeera mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu. 26EZE002.007 And thou shalt speak my words unto them, whether they will hear, or whether they will forbear: for they are most rebellious. %%% Era olibagamba ebigambo byange oba nga banaawulira) oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini. 26EZE002.008 But thou, son of man, hear what I say unto thee; Be not thou rebellious like that rebellious house: open thy mouth, and eat that I give thee. %%% Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa: 26EZE002.009 And when I looked, behold, an hand was sent unto me; and, lo, a roll of a book was therein; %%% Awo bwe nnatunula, laba, omukono gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo; 26EZE002.010 And he spread it before me; and it was written within and without: and there was written therein lamentations, and mourning, and woe. %%% n'agwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike. 26EZE003.001 Moreover he said unto me, Son of man, eat that thou findest; eat this roll, and go speak unto the house of Israel. %%% Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, lya ekyo ky'osanga; lya omuzingo guno, ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri. 26EZE003.002 So I opened my mouth, and he caused me to eat that roll. %%% Awo ne njasama akamwa kange n'andiisa omuzingo. 26EZE003.003 And he said unto me, Son of man, cause thy belly to eat, and fill thy bowels with this roll that I give thee. Then did I eat it; and it was in my mouth as honey for sweetness. %%% N'aŋŋamba nti omwana w'omuntu, liisa olubuto wo, ojjuze ebyenda byo omuzingo guno gwe nkuwa. Kale ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki okuwoomerera. 26EZE003.004 And he said unto me, Son of man, go, get thee unto the house of Israel, and speak with my words unto them. %%% Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, genda otuuke eri ennyunba ya Isiraeri, oyogere nabo ebigambo byange. 26EZE003.005 For thou art not sent to a people of a strange speech and of an hard language, but to the house of Israel; %%% Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri; 26EZE003.006 Not to many people of a strange speech and of an hard language, whose words thou canst not understand. Surely, had I sent thee to them, they would have hearkened unto thee. %%% si eri amawanga amangi ab'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, b'otoyinza kutegeera bigambo byabwe. Mazima singa nkubatumidde bo, bandikuwulidde. 26EZE003.007 But the house of Israel will not hearken unto thee; for they will not hearken unto me: for all the house of Israel are impudent and hardhearted. %%% Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mukakanyavu. 26EZE003.008 Behold, I have made thy face strong against their faces, and thy forehead strong against their foreheads. %%% Laba, nkalubizza amaaso go awali amaaso gaabwe, n'ekyenyi kyo nkikalubizza awali ekyenyi kyabwe. 26EZE003.009 As an adamant harder than flint have I made thy forehead: fear them not, neither be dismayed at their looks, though they be a rebellious house. %%% Nfudde ekyenyi kyo ng'alimasi okukaluba okusinga ejjinja ery'embaalebaale: obatyanga, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu. 26EZE003.010 Moreover he said unto me, Son of man, all my words that I shall speak unto thee receive in thine heart, and hear with thine ears. %%% Era nate n’aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonna bye ndikubuulira, bikkirize mu mutima gwo, owulire n'amatu go. 26EZE003.011 And go, get thee to them of the captivity, unto the children of thy people, and speak unto them, and tell them, Thus saith the Lord GOD; whether they will hear, or whether they will forbear. %%% Era genda otuuke eri abo ab'obusibe, eri abaana ab'abantu bo, oyogere nabo obabuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo. 26EZE003.012 Then the spirit took me up, and I heard behind me a voice of a great rushing, saying, Blessed be the glory of the LORD from his place. %%% Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ery'okuwulukuka okunene nga lyogera nti Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye. 26EZE003.013 I heard also the noise of the wings of the living creatures that touched one another, and the noise of the wheels over against them, and a noise of a great rushing. %%% Awo ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikomaganako, n'okuwuuma kwa bannamuziga ku mabbali gaabyo, okuwuuma okuwulukuka okunene. 26EZE003.014 So the spirit lifted me up, and took me away, and I went in bitterness, in the heat of my spirit; but the hand of the LORD was strong upon me. %%% Awo omwoyo ne gunsitula ne guntwala: ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumye, omukono gw'a Mukama ne guba gw'amaanyi ku nze. 26EZE003.015 Then I came to them of the captivity at Telabib, that dwelt by the river of Chebar, and I sat where they sat, and remained there astonished among them seven days. %%% Awo ne ndyoka njija eri ab'obusibe e Terabibu, abaabeera ku mugga Kebali, ne mu kifo mwe baabeera; ne ntuula awo mu bo nga nsamaaliridde ne mmala ennaku musanvu. 26EZE003.016 And it came to pass at the end of seven days, that the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo olwatuuka ennaku musanvu bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE003.017 Son of man, I have made thee a watchman unto the house of Israel: therefore hear the word at my mouth, and give them warning from me. %%% Omwana w'omuntu nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulaba okuva gye ndi. 26EZE003.018 When I say unto the wicked, Thou shalt surely die; and thou givest him not warning, nor speakest to warn the wicked from his wicked way, to save his life; the same wicked man shall die in his iniquity; but his blood will I require at thine hand. %%% Bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naawe n'otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 26EZE003.019 Yet if thou warn the wicked, and he turn not from his wickedness, nor from his wicked way, he shall die in his iniquity; but thou hast delivered thy soul. %%% Era naye bw'olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo. 26EZE003.020 Again, When a righteous man doth turn from his righteousness, and commit iniquity, and I lay a stumbling-block before him, he shall die: because thou hast not given him warning, he shall die in his sin, and his righteousness which he hath done shall not be remembered; but his blood will I require at thine hand. %%% Nate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n'ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 26EZE003.021 Nevertheless if thou warn the righteous man, that the righteous sin not, and he doth not sin, he shall surely live, because he is warned; also thou hast delivered thy soul. %%% Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n'atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng'owonyezza emeeme yo. 26EZE003.022 And the hand of the LORD was there upon me; and he said unto me, Arise, go forth into the plain, and I will there talk with thee. %%% Awo omukono gw'a Mukama ne guba ku nze eyo; n'aŋŋamba nti Golokoka ofulume ogende mu lusenyi, nange ndyogerera naawe eyo. 26EZE003.023 Then I arose, and went forth into the plain: and, behold, the glory of the LORD stood there, as the glory which I saw by the river of Chebar: and I fell on my face. %%% Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ŋŋenda mu lusenyi kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng'ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali ne nvuunama amaaso gange. 26EZE003.024 Then the spirit entered into me, and set me upon my feet, and spake with me, and said unto me, Go, shut thyself within thine house. %%% Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange n'aŋŋamba nti Genda weggalire mu nnyumba yo. 26EZE003.025 But thou, O son of man, behold, they shall put bands upon thee, and shall bind thee with them, and thou shalt not go out among them: %%% Naye ggwe, omwana w'omuntu, laba, balikussaako enjegere, ne bazikusibisa, so tolifuluma mu bo: 26EZE003.026 And I will make thy tongue cleave to the roof of thy mouth, that thou shalt be dumb, and shalt not be to them a reprover: for they are a rebellious house. %%% era ndyegassa olulimi lwo n'ekibuno kyo, obeere kasiru era oleme okubeera gye bali anenya: kubanga nnyumba njeemu. 26EZE003.027 But when I speak with thee, I will open thy mouth, and thou shalt say unto them, Thus saith the Lord GOD; He that heareth, let him hear; and he that forbeareth, let him forbear: for they are a rebellious house. %%% Naye bwe njogera naawe, ndyasamya akamwa ko, naawe olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nnyumba njeemu. 26EZE004.001 Thou also, son of man, take thee a tile, and lay it before thee, and pourtray upon it the city, even Jerusalem: %%% Era, omwana w'omuntu, weddirire ettoffaali oliteeke mu maaso go, oliwandiikeko ekibuga, Yerusaalemi: 26EZE004.002 And lay siege against it, and build a fort against it, and cast a mount against it; set the camp also against it, and set battering rams against it round about. %%% okizingize, okizimbireko ebigo, okituumireko ekifunvu; era teekawo ensiisira okukirumba, okisimbeko ebitomera enjuyi zonna. 26EZE004.003 Moreover take thou unto thee an iron pan, and set it for a wall of iron between thee and the city: and set thy face against it, and it shall be besieged, and thou shalt lay siege against it. This shall be a sign to the house of Israel. %%% Era weddirire ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga: okisseeko amaaso go, kale kirizingizibwa, naawe olikizingiza. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isiraeri. 26EZE004.004 Lie thou also upon thy left side, and lay the iniquity of the house of Israel upon it: according to the number of the days that thou shalt lie upon it thou shalt bear their iniquity. %%% Era nate galamiririra ku lubiriizi lwo olwa kkono, oluteekeko obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri: ng'omuwendo gw'ennaku bwe guliba z'oligalamiririra ku lwo, bw'olyetikka obutali butuukirivu bwabwe. 26EZE004.005 For I have laid upon thee the years of their iniquity, according to the number of the days, three hundred and ninety days: so shalt thou bear the iniquity of the house of Israel. %%% Kubanga ntaddewo emyaka egy'obutali butuukirivu bwabwe okuba gy'oli omuwendo gw'ennaku, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda: bw'otyo bw'olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Isiraeri. 26EZE004.006 And when thou hast accomplished them, lie again on thy right side, and thou shalt bear the iniquity of the house of Judah forty days: I have appointed thee each day for a year. %%% Era nate bw'oliba ng'omaze ezo, oligalamiririra ku lubiriizi lwo olwa ddyo, olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda: ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka, bwe nnabuteekerawo gy'oli. 26EZE004.007 Therefore thou shalt set thy face toward the siege of Jerusalem, and thine arm shall be uncovered, and thou shalt prophesy against it. %%% Era osse amaaso go eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, omukono gwo nga gubikkuddwako; era olikiragulirako. 26EZE004.008 And, behold, I will lay bands upon thee, and thou shalt not turn thee from one side to another, till thou hast ended the days of thy siege. %%% Era, laba, nkuteekako enjegere, so tokyukanga okugalamirira ku lubiriizi olulala, okutuusa lw'olimala ennaku ez'okuzingiza kwo. 26EZE004.009 Take thou also unto thee wheat, and barley, and beans, and lentiles, and millet, and fitches, and put them in one vessel, and make thee bread thereof, according to the number of the days that thou shalt lie upon thy side, three hundred and ninety days shalt thou eat thereof. %%% Era weetwalire eŋŋaano ne sayiri n'ebijanjaalo ne kawo n'omuwemba n'obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weegoyere omugaati nabyo; ng'omuwendo gw'ennaku z'oligalamiririra ku lubiriizi lwo, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda, bw'onooliirangako bw'otyo. 26EZE004.010 And thy meat which thou shalt eat shall be by weight, twenty shekels a day: from time to time shalt thou eat it. %%% N'emmere yo gy'onoolyanga eneepimibwanga, sekeri amakumi abiri buli lunaku: onoogiriiranga mu ntuuko zaayo. 26EZE004.011 Thou shalt drink also water by measure, the sixth part of an hin: from time to time shalt thou drink. %%% Era onoonywanga amazzi agagerebwa, ekitundu ekya yini eky'omukaaga: onoonyweranga mu ntuuko zaago. 26EZE004.012 And thou shalt eat it as barley cakes, and thou shalt bake it with dung that cometh out of man, in their sight. %%% Era onoogiryanga nga migaati gya sayiri, era onoogyokeranga mu mazzi agava mu bantu, bo nga balaba. 26EZE004.013 And the LORD said, Even thus shall the children of Israel eat their defiled bread among the Gentiles, whither I will drive them. %%% Awo Mukama n'ayogera nti Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri banaalyanga emmere yaabwe nga si nnongoofu mu mawanga gye ndibagobera. 26EZE004.014 Then said I, Ah Lord GOD! behold, my soul hath not been polluted: for from my youth up even till now have I not eaten of that which dieth of itself, or is torn in pieces; neither came there abominable flesh into my mouth. %%% Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! Laba, emmeeme yange teyonoonebwanga: kubanga okuva ku buto bwange na buli kati siryanga ku ekyo ekifa kyokka newakubadde ekitaaguddwa ensolo; so n'ennyama ey'omuzizo teyingiranga mu kamwa kange. 26EZE004.015 Then he said unto me, Lo, I have given thee cow's dung for man's dung, and thou shalt prepare thy bread therewith. %%% Awo n'alyoka aŋŋamba nti Laba, nkuwadde obusa bw'ente mu kifo ky'amazi ag'abantu, era onoolongooserezanga okwo omugaati gwo. 26EZE004.016 Moreover he said unto me, Son of man, behold, I will break the staff of bread in Jerusalem: and they shall eat bread by weight, and with care; and they shall drink water by measure, and with astonishment: %%% Era nate n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, laba, ndimenya omuggo ogw'omugaati mu Yerusaalemi: kale banaalyanga omugaati nga bagupima era nga beeraliikirira; era banaanywanga amazzi nga bagagera era nga basamaalirira: 26EZE004.017 That they may want bread and water, and be astonied one with another, and consume away for their iniquity. %%% babulwe omugaati n'amazzi, era basamaaliriragane, ne bayongoberera mu butali butuukirivu bwabwe. 26EZE005.001 And thou, son of man, take thee a sharp knife, take thee a barber's razor, and cause it to pass upon thine head and upon thy beard: then take thee balances to weigh, and divide the hair. %%% Naawe, omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okyeddirire ng'akamwano ak'omumwi, okiyise ku mutwe gwo ne ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nviiri. 26EZE005.002 Thou shalt burn with fire a third part in the midst of the city, when the days of the siege are fulfilled: and thou shalt take a third part, and smite about it with a knife: and a third part thou shalt scatter in the wind; and I will draw out a sword after them. %%% Ekitundu eky'okusatu okyokeranga mu muliro wakati mu kibuga, ennaku ez'okuzingiza nga zituukiridde; n'ekitundu eky'okusatu okiddiranga, n'otema n'ekitala okukyetooloola; n'ekitundu eky'okusatu okisaasaanyizanga eri empewo, nange ndisowola ekitala ekiribagoberera. 26EZE005.003 Thou shalt also take thereof a few in number, and bind them in thy skirts. %%% Era otwalangako omuwendo gwazo si nnyingi n'ozisiba mu kirenge kyo. 26EZE005.004 Then take of them again, and cast them into the midst of the fire, and burn them in the fire; for thereof shall a fire come forth into all the house of Israel. %%% Era ne ku ezo otwalangako, ozisuule mu muliro wakati, ozookere mu muliro; mu zo omuliro mwe guliva ogulibuna ennyumba yonna eya Isiraeri. 26EZE005.005 Thus saith the Lord GOD; This is Jerusalem: I have set it in the midst of the nations and countries that are round about her. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kino ye Yerusaalemi: nkitadde wakati mu mawanga, n'ensi zikyetoolodde. 26EZE005.006 And she hath changed my judgments into wickedness more than the nations, and my statutes more than the countries that are round about her: for they have refused my judgments and my statutes, they have not walked in them. %%% Era kyajeemera emisango gyange nga kikola obubi okusinga amawanga, era kijeemedde amateeka gange okusinga ensi ezikyetoolodde: kubanga bagaanyi emisango gyange, n'amateeka gange tebagatambuliddemu. 26EZE005.007 Therefore thus saith the Lord GOD; Because ye multiplied more than the nations that are round about you, and have not walked in my statutes, neither have kept my judgments, neither have done according to the judgments of the nations that are round about you; %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde; 26EZE005.008 Therefore thus saith the Lord GOD; Behold, I, even I, am against thee, and will execute judgments in the midst of thee in the sight of the nations. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba. 26EZE005.009 And I will do in thee that which I have not done, and whereunto I will not do any more the like, because of all thine abominations. %%% Era ndikolera mu ggwe ekyo kye ssikolanga, era kye ssigenda kukola nate ekiri bwe kityo, olw'emizizo gyo gyonna. 26EZE005.010 Therefore the fathers shall eat the sons in the midst of thee, and the sons shall eat their fathers; and I will execute judgments in thee, and the whole remnant of thee will I scatter into all the winds. %%% Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna. 26EZE005.011 Wherefore, as I live, saith the Lord GOD; Surely, because thou hast defiled my sanctuary with all thy detestable things, and with all thine abominations, therefore will I also diminish thee; neither shall mine eye spare, neither will I have any pity. %%% Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n'ebibyo byonna eby'ebivve n'ebibyo byonna eby'emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n'amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa. 26EZE005.012 A third part of thee shall die with the pestilence, and with famine shall they be consumed in the midst of thee: and a third part shall fall by the sword round about thee; and I will scatter a third part into all the winds, and I will draw out a sword after them. %%% Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu ggwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n'ensowola ekitala ekiribagoberera. 26EZE005.013 Thus shall mine anger be accomplished, and I will cause my fury to rest upon them, and I will be comforted: and they shall know that I the LORD have spoken it in my zeal, when I have accomplished my fury in them. %%% Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange. 26EZE005.014 Moreover I will make thee waste, and a reproach among the nations that are round about thee, in the sight of all that pass by. %%% Era nate ndikufuula amatongo n'ekivume mu mawanga gonna agakwetoolodde, abo bonna abayitawo nga balaba. 26EZE005.015 So it shall be a reproach and a taunt, an instruction and an astonishment unto the nations that are round about thee, when I shall execute judgments in thee in anger and in fury and in furious rebukes. I the LORD have spoken it. %%% Awo kiriba kivume n'ekikiino ekiyigirwako era ekisamaalirirwa eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era nga nnenya n'ekiruyi: nze Mukama nkyogedde 26EZE005.016 When I shall send upon them the evil arrows of famine, which shall be for their destruction, and which I will send to destroy you: and I will increase the famine upon you, and will break your staff of bread: %%% bwe ndibaweerezaako obusaale obubi obw'enjala obw'okuzikiriza bwe ndiweereza okubazikiriza: era ndyongera ku mmwe enjala, era ndimenya omuggo gwammwe ogw'omugaati; 26EZE005.017 So will I send upon you famine and evil beasts, and they shall bereave thee; and pestilence and blood shall pass through thee; and I will bring the sword upon thee. I the LORD have spoken it. %%% era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde. 26EZE006.001 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era ekigambo lya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE006.002 Son of man, set thy face toward the mountains of Israel, and prophesy against them, %%% Omwana w'omuntu, osse amaaso ge eri ensozi za Isiraeri, oziragule, oyogere nti 26EZE006.003 And say, Ye mountains of Israel, hear the word of the Lord GOD; Thus saith the Lord GOD to the mountains, and to the hills, to the rivers, and to the valleys; Behold, I, even I, will bring a sword upon you, and I will destroy your high places. %%% Mmwe ensozi za Isiraeri muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu, nti Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, eri ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu. 26EZE006.004 And your altars shall be desolate, and your images shall be broken: and I will cast down your slain men before your idols. %%% N'ebyoto byammwe birirekebwawo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba birimenyeka: eri ndisuula abasajja bammwe abattibwa mu maaso g'ebifaananyi byammwe. 26EZE006.005 And I will lay the dead carcases of the children of Israel before their idols; and I will scatter your bones round about your altars. %%% Era ndigalamiza emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maaso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe. 26EZE006.006 In all your dwellingplaces the cities shall be laid waste, and the high places shall be desolate; that your altars may be laid waste and made desolate, and your idols may be broken and cease, and your images may be cut down, and your works may be abolished. %%% Mu bifo byonna mwe mubeera ebibuga birizisibwa, n'ebifo ebigulumivu birirekebwawo: ebyoto byammwe bizisibwe era birekebwewo, n'ebifaananyi byammwe bimenyeke biggweewo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba bitemerwe ddala, n’emirimu gyammwe giggibwewo. 26EZE006.007 And the slain shall fall in the midst of you, and ye shall know that I am the LORD. %%% Kale abattibwa baligwa wakati mu mmwe, era mulimanya nga nze ndi Mukama. 26EZE006.008 Yet will I leave a remnant, that ye may have some that shall escape the sword among the nations, when ye shall be scattered through the countries. %%% Era naye ndireka ekitundu ekifisseewo, kubanga muliba n'abamu abaliwona ekitala mu mawanga, bwe mulisaasaanyizibwa mu nsi nnyingi. 26EZE006.009 And they that escape of you shall remember me among the nations whither they shall be carried captives, because I am broken with their whorish heart, which hath departed from me, and with their eyes, which go a whoring after their idols: and they shall lothe themselves for the evils which they have committed in all their abominations. %%% Kale abo abaliwona ku mmwe balinjijukira nga bayima mu mawanga gye balitwalibwa mu basibe, bwe nnamenyeka olw’omutima gwabwe omwenzi, oguvudde ku nze, n'olw'amaaso gaabwe agagenda nga gayenda okugoberera ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maaso gaabwe bo olw’obubi bwe bakola mu mizizo gyabwe gyonna. 26EZE006.010 And they shall know that I am the LORD, and that I have not said in vain that I would do this evil unto them. %%% Era balimanya nga nze Mukama: saayogerera bwereere nga ndibakola obubi buno. 26EZE006.011 Thus saith the Lord GOD; Smite with thine hand, and stamp with thy foot, and say, Alas for all the evil abominations of the house of Israel! for they shall fall by the sword, by the famine, and by the pestilence. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kuba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, oyogere nti Woowe! olw'emizizo gyonna emibi egy'ennyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli. 26EZE006.012 He that is far off shall die of the pestilence; and he that is near shall fall by the sword; and he that remaineth and is besieged shall die by the famine: thus will I accomplish my fury upon them. %%% Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n’ekitala; n'oyo asigalawo n’azingizibwa alifa enjala: bwe ntyo bwe ndituukiririza ekiruyi kyange ku bo. 26EZE006.013 Then shall ye know that I am the LORD, when their slain men shall be among their idols round about their altars, upon every high hill, in all the tops of the mountains, and under every green tree, and under every thick oak, the place where they did offer sweet savour to all their idols. %%% Nammwe mulimanya nga nze ndi Mukama, abasajja baabwe abattiddwa bwe baliba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntikko zonna ez'ensozi ne wansi wa buli muti ogwera ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baweerangayo evvumbe eddungi eri ebifaananyi byabwe byonna. 26EZE006.014 So will I stretch out my hand upon them, and make the land desolate, yea, more desolate than the wilderness toward Diblath, in all their habitations: and they shall know that I am the LORD. %%% Nange ndibagololerako omukono gwange ne ndekesawo ensi ne ngizisa, okuva ku ddungu e Dibula, okubuna ennyumba zaabwe zonna: kale balimanya nga nze ndi Mukama. 27EZE007.001 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE007.001 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE007.002 Also, thou son of man, thus saith the Lord GOD unto the land of Israel; An end, the end is come upon the four corners of the land. %%% Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensi ya Isiraeri nti Enkomerero: enkonerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez'ensi. 26EZE007.003 Now is the end come upon thee, and I will send mine anger upon thee, and will judge thee according to thy ways, and will recompense upon thee all thine abominations. %%% Kaakano enkomerero ekutuuseeko, nange ndikuweereza ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna. 26EZE007.004 And mine eye shall not spare thee, neither will I have pity: but I will recompense thy ways upon thee, and thine abominations shall be in the midst of thee: and ye shall know that I am the LORD. %%% So n'eriiso lyange teririkusonyiwa so sirikwatibwa kisa: naye ndikuleetako amakubo go, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati: kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE007.005 Thus saith the Lord GOD; An evil, an only evil, behold, is come. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Akabi, akabi kamu: laba, kajja. 26EZE007.006 An end is come, the end is come: it watcheth for thee; behold, it is come. %%% Enkomerero etuuse, enkomerero yennyini etuuse, ezuukuka eri ggwe: laba, ejja. 26EZE007.007 The morning is come unto thee, O thou that dwellest in the land: the time is come, the day of trouble is near, and not the sounding again of the mountains. %%% Omusango gwo gutuuse gy'oli, ai ggwe atuula mu nsi: ekiseera kituuse, olunaku luli kumpi; olunaku olw'okusasamaliramu so si lwa kwogereramu waggulu n'essanyu, ku nsozi. 26EZE007.008 Now will I shortly pour out my fury upon thee, and accomplish mine anger upon thee: and I will judge thee according to thy ways, and will recompense thee for all thine abominations. %%% Kaakano naatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne ntuukiriza obusungu bwange eri ggwe, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna. 26EZE007.009 And mine eye shall not spare, neither will I have pity: I will recompense thee according to thy ways and thine abominations that are in the midst of thee; and ye shall know that I am the LORD that smiteth. %%% So n'eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: ndikuleetako ng'amakubo go bwe gali, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba. 26EZE007.010 Behold the day, behold, it is come: the morning is gone forth; the rod hath blossomed, pride hath budded. %%% Laba, olunaku, laba, lujja: omusango gwo gufulumye; omuggo gwanyizza, amalala gamulisizza. 26EZE007.011 Violence is risen up into a rod of wickedness: none of them shall remain, nor of their multitude, nor of any of theirs: neither shall there be wailing for them. %%% Ekyejo kigolokose okuba omuggo ogw'obubi; tewaliba ku bo abalisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe newakubadde obugagga bwabwe: so tewaliba bukulu mu bo. 26EZE007.012 The time is come, the day draweth near: let not the buyer rejoice, nor the seller mourn: for wrath is upon all the multitude thereof. %%% Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n'atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu buli ku lufulube lwabwe lwonna. 26EZE007.013 For the seller shall not return to that which is sold, although they were yet alive: for the vision is touching the whole multitude thereof, which shall not return; neither shall any strengthen himself in the iniquity of his life. %%% Kubanga atunda talidda eri ekyo ekitundibwa, newakubadde nga bakyali balamu: kubanga okwolesebwa kwa lufulube lwabwe lwonna, tewaliba alidda; so tewaliba alyenyweza mu butali butuukirivu obw'obulamu bwe. 26EZE007.014 They have blown the trumpet, even to make all ready; but none goeth to the battle: for my wrath is upon all the multitude thereof. %%% Bafuuye ekkondeere bategese byonna; naye tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku lufulube lwabwe lwonna. 26EZE007.015 The sword is without, and the pestilence and the famine within: he that is in the field shall die with the sword; and he that is in the city, famine and pestilence shall devour him. %%% Ekitala kiri bweru, ne kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimulya. 26EZE007.016 But they that escape of them shall escape, and shall be on the mountains like doves of the valleys, all of them mourning, every one for his iniquity. %%% Naye abo abaliwonawo ku bo baliwona, era baliba ku nsozi nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli muntu mu butali butuukirivu bwe. 26EZE007.017 All hands shall be feeble, and all knees shall be weak as water. %%% Emikono gyonna giriyongobera, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi. 26EZE007.018 They shall also gird themselves with sackcloth, and horror shall cover them; and shame shall be upon all faces, and baldness upon all their heads. %%% Era balyesiba ebibukutu, n'ensisi eribabikkako; n'ensonyi ziribeera ku maaso gonna, n'emitwe gyabwe gyonna giribaako ebiwalaata. 26EZE007.019 They shall cast their silver in the streets, and their gold shall be removed: their silver and their gold shall not be able to deliver them in the day of the wrath of the LORD: they shall not satisfy their souls, neither fill their bowels: because it is the stumblingblock of their iniquity. %%% Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng'ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalyekkusa mmeeme zaabwe, so tebalyejjuza mbuto zaabwe: kubanga ebyo bye byabanga enkonge ey'obutali butuukirivu bwabwe. 26EZE007.020 As for the beauty of his ornament, he set it in majesty: but they made the images of their abominations and of their detestable things therein: therefore have I set it far from them. %%% Obulungi obw'obuyonjo bwe yabusimba mu bukulu: naye ne bakolera ebifaananyi eby'emizizo gyabwe n'ebintu byabwe eby'ebivve omwo: kyenvudde mbufuula gye bali ng'ekintu ekitali kirongoofu. 26EZE007.021 And I will give it into the hands of the strangers for a prey, and to the wicked of the earth for a spoil; and they shall pollute it. %%% Era ndibuwaayo mu mikono gya bannaggwanga okuba omunyago, n'eri ababi ab'omu nsi okuba eky'okugereka; era balibwonoona. 26EZE007.022 My face will I turn also from them, and they shall pollute my secret place: for the robbers shall enter into it, and defile it. %%% Era ndikyusa n'amaaso gange okugabaggyako, era bo balyonoona ekifo kyange eky'ekyama: era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona. 26EZE007.023 Make a chain: for the land is full of bloody crimes, and the city is full of violence. %%% Kola olujegere: kubanga ensi ejjudde emisango egy'omusaayi, era ekibuga kijjudde ekyejo. 26EZE007.024 Wherefore I will bring the worst of the heathen, and they shall possess their houses: I will also make the pomp of the strong to cease; and their holy places shall be defiled. %%% Kyendiva ndeeta bannaggwanga abasinga obubi, ne balya ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaanyi; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa. 26EZE007.025 Destruction cometh; and they shall seek peace, and there shall be none. %%% Okuzikirira kujja; era balinoonya emirembe, kale nga tewali. 26EZE007.026 Mischief shall come upon mischief, and rumour shall be upon rumour; then shall they seek a vision of the prophet; but the law shall perish from the priest, and counsel from the ancients. %%% Walijja akabi ku kabi, era waliwulirwa ebigambo ku bigambo; era balinoonya okwolesebwa eri nnabbi; naye amateeka galibula awali kabona, n'okuteesa awali abakadde. 26EZE007.027 The king shall mourn, and the prince shall be clothed with desolation, and the hands of the people of the land shall be troubled: I will do unto them after their way, and according to their deserts will I judge them; and they shall know that I am the LORD. %%% Kabaka aliwuubaala, n'omukungu alyambala obuyinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi giryeraliikirira: ndibakola ng'ekkubo lyabwe bwe liri, era nga bwe basaanidde bwe ndibasalira omusango; kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE008.001 And it came to pass in the sixth year, in the sixth month, in the fifth day of the month, as I sat in mine house, and the elders of Judah sat before me, that the hand of the Lord GOD fell there upon me. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omukaaga mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku oIw'okutaano olw'omwezi, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n'abakadde ba Yuda nga batudde mu maaso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gugwira eyo ku nze. 26EZE008.002 Then I beheld, and lo a likeness as the appearance of fire: from the appearance of his loins even downward, fire; and from his loins even upward, as the appearance of brightness, as the colour of amber. %%% Awo ne ntunula, era, laba, ekifaananyi ekyali ng'embala ey'omuliro; okuva ku mbala ey'ekiwato kye ne wansi, muliro: n'okuva ku kiwato kye n'okwambuka, ng'embala ey'okumasamasa, ng'ebbala lya zaabu etabuddwamu effeeza. 26EZE008.003 And he put forth the form of an hand, and took me by a lock of mine head; and the spirit lifted me up between the earth and the heaven, and brought me in the visions of God to Jerusalem, to the door of the inner gate that looketh toward the north; where was the seat of the image of jealousy, which provoketh to jealousy. %%% Awo n'agolola ekyali ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enviiri ez'oku mutwe gwange; omwoyo ne gunsitula wakati w'ensi n'eggulu ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri oluggi olw'omulyango ogw'oluggya olw'omunda, ogutunuulira obukiika obwa kkono; awali entebe ey'ekifaananyi eky'obuggya ekireeta obuggya. 26EZE008.004 And, behold, the glory of the God of Israel was there, according to the vision that I saw in the plain. %%% Awo, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isireaeri kyali eyo ng'embala bwe yali gye nnalabira mu lusenyi. 26EZE008.005 Then said he unto me, Son of man, lift up thine eyes now the way toward the north. So I lifted up mine eyes the way toward the north, and behold northward at the gate of the altar this image of jealousy in the entry. %%% Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimusa amaaso go kaakano eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono. Awo ne nnyimusa amaaso gange eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono, kale, laba, ekifaananyi kino eky'obuggya nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omulyango ogw'ekyoto. 26EZE008.006 He said furthermore unto me, Son of man, seest thou what they do? even the great abominations that the house of Israel committeth here, that I should go far off from my sanctuary? but turn thee yet again, and thou shalt see greater abominations. %%% Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olaba kye bakola? olaba emizizo emikulu ennyumba ya Isiraeri gye bakolera wano, ndyoke nneesambe wala awatukuvu wange? naye onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu. 26EZE008.007 And he brought me to the door of the court; and when I looked, behold a hole in the wall. %%% Awo n'andeeta ku luggi olw'oluggya; awo bwe nnatunula, laba, ekituli nga kiri mu kisenge. 26EZE008.008 Then said he unto me, Son of man, dig now in the wall: and when I had digged in the wall, behold a door. %%% Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, sima nno mu kisenge awo bwe nnamala okusima mu kisenge, laba, oluggi. 26EZE008.009 And he said unto me, Go in, and behold the wicked abominations that they do here. %%% N'aŋŋamba nti Yingira olabe emizizo egy'obubi gye bakolera wano. 26EZE008.010 So I went in and saw; and behold every form of creeping things, and abominable beasts, and all the idols of the house of Israel, pourtrayed upon the wall round about. %%% Awo ne nnyingira ne ndaba; era, laba, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo ez'emizizo n'ebifaananyi byonna eby'ennyumba ya Isiraeri nga bitoneddwa ku kisenge enjuyi zonna. 26EZE008.011 And there stood before them seventy men of the ancients of the house of Israel, and in the midst of them stood Jaazaniah the son of Shaphan, with every man his censer in his hand; and a thick cloud of incense went up. %%% Era nga wayimiridde mu maaso gaabyo abasajja nsanvu ku bakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri, ne wakati mu bo nga muyimiridde Yaazaniya mutabani wa Safani, buli muntu ng'akutte ekyoterezo kye mu mukono gwe; akaloosa ak'ekire eky'obubaane ne kanyooka. 26EZE008.012 Then said he unto me, Son of man, hast thou seen what the ancients of the house of Israel do in the dark, every man in the chambers of his imagery? for they say, The LORD seeth us not; the LORD hath forsaken the earth. %%% Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olabye abakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri kye bakolera mu kizikiza, buli muntu mu bisenge bye ebirimu ebifaananyi? kubanga boogera nti Mukama tatulaba; Mukama yaleka ensi. 26EZE008.013 He said also unto me, Turn thee yet again, and thou shalt see greater abominations that they do. %%% Era n'aŋŋamba nti Era onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu gye bakola. 26EZE008.014 Then he brought me to the door of the gate of the LORD's house which was toward the north; and, behold, there sat women weeping for Tammuz. %%% Awo n'andeeta eri oluggi olw'omulyango ogw'ennyumba ya Mukama ogwayolekera obukiika obwa kkono; awo, laba, abakazi nga batudde eyo nga bakaabira Tammuzi. 26EZE008.015 Then said he unto me, Hast thou seen this, O son of man? turn thee yet again, and thou shalt see greater abominations than these. %%% Awo n'aŋŋamba nti Olabye, omwana w'omuntu? era onoolaba nate emizizo egisinga gino obukulu. 26EZE008.016 And he brought me into the inner court of the LORD's house, and, behold, at the door of the temple of the LORD, between the porch and the altar, were about five and twenty men, with their backs toward the temple of the LORD, and their faces toward the east; and they worshipped the sun toward the east. %%% Awo n'andeeta mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, kale, laba, ku luggi olwa yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasajja ng'amakumi abiri mu bataano, abakubye enkoona yeekaalu ya Mukama n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ebuvanjuba; era nga basinza enjuba nga batunuulira ebuvanjuba. 26EZE008.017 Then he said unto me, Hast thou seen this, O son of man? Is it a light thing to the house of Judah that they commit the abominations which they commit here? for they have filled the land with violence, and have returned to provoke me to anger: and, lo, they put the branch to their nose. %%% Awo n'aŋŋamba nti Olabye, omwana w'omuntu? kigambo kyangu eri ennyumba ya Yuda nga bakola emizizo gye bakolera wano? kubanga bajjuzizza ensi ekyejo, era bakyuse nate okunsunguwaza: era, laba, basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe. 26EZE008.018 Therefore will I also deal in fury: mine eye shall not spare, neither will I have pity: and though they cry in mine ears with a loud voice, yet will I not hear them. %%% Era nange kyendiva nkola n'ekiruyi: eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: era newakubadde nga bakaaba n'eddoboozi ddene mu matu gange, siribawulira. 26EZE009.001 He cried also in mine ears with a loud voice, saying, Cause them that have charge over the city to draw near, even every man with his destroying weapon in his hand. %%% Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange ng'ayogera nti Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe. 26EZE009.002 And, behold, six men came from the way of the higher gate, which lieth toward the north, and every man a slaughter weapon in his hand; and one man among them was clothed with linen, with a writer's inkhorn by his side: and they went in, and stood beside the brasen altar. %%% Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu ogwolekera obukiika obwa kkono, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekitta mu mukono gwe; n'omusajja omu wakati mu bo ayambadde bafuta ng'alina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo. 26EZE009.003 And the glory of the God of Israel was gone up from the cherub, whereupon he was, to the threshold of the house. And he called to the man clothed with linen, which had the writer's inkhorn by his side; %%% Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali okutuuka ku mulyango ogw'ennyumba: n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato. 26EZE009.004 And the LORD said unto him, Go through the midst of the city, through the midst of Jerusalem, and set a mark upon the foreheads of the men that sigh and that cry for all the abominations that be done in the midst thereof. %%% Awo Mukama n'amugamba nti Genda oyite wakati mu kibuga, wakati mu Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolerwa wakati mu kyo. 26EZE009.005 And to the others he said in mine hearing, Go ye after him through the city, and smite: let not your eye spare, neither have ye pity: %%% N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti Mmwe muyite mu kibuga nga mumuvaako ennyuma mufumite: eriiso lyammwe lireme okusonyiwa so temubanga na kisa: 26EZE009.006 Slay utterly old and young, both maids, and little children, and women: but come not near any man upon whom is the mark; and begin at my sanctuary. Then they began at the ancient men which were before the house. %%% muttire ddala omukadde n'omulenzi n'omuwala n'abaana abato n'abakazi: naye temusembereranga muntu yenna aliko akabonero era musookere ku watukuvu wange. Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba 26EZE009.007 And he said unto them, Defile the house, and fill the courts with the slain: go ye forth. And they went forth, and slew in the city. %%% N'abagamba nti Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya abattibwa: mufulume. Awo ne bafuluma ne bafumitira mu kibuga. 26EZE009.008 And it came to pass, while they were slaying them, and I was left, that I fell upon my face, and cried, and said, Ah Lord GOD! wilt thou destroy all the residue of Israel in thy pouring out of thy fury upon Jerusalem? %%% Awo olwatuuka bwe baali nga bafumita nange nga nsigaddewo, ne nvuunama amaaso gange ne nkaaba ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kye ku Yerusaalemi? 26EZE009.009 Then said he unto me, The iniquity of the house of Israel and Judah is exceeding great, and the land is full of blood, and the city full of perverseness: for they say, The LORD hath forsaken the earth, and the LORD seeth not. %%% Awo n'aŋŋamba nti Obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri ne Yuda bungi nnyo nnyini, n'ensi ejjudde omusaayi, n'ekibuga kijjudde okulya ensonga: kubanga boogera nti Mukama yaleka ensi, so Mukama talaba. 26EZE009.010 And as for me also, mine eye shall not spare, neither will I have pity, but I will recompense their way upon their head. %%% Era nange eriiso lyange teririsonyiwa so sirisaasira, naye ndireeta ekkubo lyabwe ku mutwe gwabwe. 26EZE009.011 And, behold, the man clothed with linen, which had the inkhorn by his side, reported the matter, saying, I have done as thou hast commanded me. %%% Kale, laba, omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo ng'ayogera nti Nkoze nga bw'ondagidde. 26EZE010.001 Then I looked, and, behold, in the firmament that was above the head of the cherubims there appeared over them as it were a sapphire stone, as the appearance of the likeness of a throne. %%% Awo ne ntunula, era, laba, mu bbanga eryali waggulu w'omutwe gwa bakerubi ne walabika waggulu waabwe ng'ejjinja erya safiro ng'embala ey'ekifaananyi eky'entebe. 26EZE010.002 And he spake unto the man clothed with linen, and said, Go in between the wheels, even under the cherub, and fill thine hand with coals of fire from between the cherubims, and scatter them over the city. And he went in in my sight. %%% N'agamba omusajja ayambadde bafuta n'ayogera nti Yingira wakati wa bannamuziga abeetooloola abawulukuka, wansi wa kerubi, ojjuze ebibatu byo byombi ebisiriiza eby'omuliro ebiva wakati wa bakerubi, obimansire ku kibuga. Awo n'ayingira nze nga ndaba. 26EZE010.003 Now the cherubims stood on the right side of the house, when the man went in; and the cloud filled the inner court. %%% Era bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo omusajja bwe yayingira; ekire ne kijjuza oluggya olw'omunda. 26EZE010.004 Then the glory of the LORD went up from the cherub, and stood over the threshold of the house; and the house was filled with the cloud, and the court was full of the brightness of the LORD's glory. %%% Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva ku kerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango ogw'ennyumba; ennyumba n'ejjula ekire, oluggya ne lujjula okumasamasa okw'ekitiibwa kya Mukama. 26EZE010.005 And the sound of the cherubims' wings was heard even to the outer court, as the voice of the Almighty God when he speaketh. %%% N'okuwuuma kw'ebiwaawaatiro bya kerubi ne kuwulirwa okutuuka ne mu luggya olw'ebweru, ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza w'ebintu byonna bw'ayogera. 26EZE010.006 And it came to pass, that when he had commanded the man clothed with linen, saying, Take fire from between the wheels, from between the cherubims; then he went in, and stood beside the wheels. %%% Awo olwatuuka bwe yalagira omusajja ayambadde bafuta ng'ayogera nti Ggya omuliro wakati wa bannamuziga abeetooloola abavulukuka wakati wa bakerubi, n'ayingira n'ayimirira ku mabbali ga mamuziga. 26EZE010.007 And one cherub stretched forth his hand from between the cherubims unto the fire that was between the cherubims, and took thereof, and put it into the hands of him that was clothed with linen: who took it, and went out. %%% Awo kerubi n'agolola omukono gwe ng'ayima wakati wa bakerubi eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi n'atwalako, n'aguteeka mu mikono gy'oyo ayambadde bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma. 26EZE010.008 And there appeared in the cherubims the form of a man's hand under their wings. %%% Awo ne walabika mu bakerubi embala ey'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabwe. 26EZE010.009 And when I looked, behold the four wheels by the cherubims, one wheel by one cherub, and another wheel by another cherub: and the appearance of the wheels was as the colour of a beryl stone. %%% Awo ne ntunula, era, laba, bannamuziga bana nga bali ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga omu ng'ali ku mabbali ga kerubi omu, ne nnamuziga omulala ng'ali ku mabbali ga kerubi omulala: n'embala eya bannamuziga yali ng'ebbala ery'ejjinja erya berulo. 26EZE010.010 And as for their appearances, they four had one likeness, as if a wheel had been in the midst of a wheel. %%% N'embala yaabwe, abo abana baalina ekifaananyi kimu, kwenkana mamuziga ng'ali munda wa nnamuziga. 26EZE010.011 When they went, they went upon their four sides; they turned not as they went, but to the place whither the head looked they followed it; they turned not as they went. %%% Bwe baatambulanga, ne batambulira ku mbiriizi zaabwe ennya: tebaakyuka bwe baatambula, naye mu kifo omutwe gye gwatunulanga, ne bagugobereranga tebaakyuka bwe baatambula. 26EZE010.012 And their whole body, and their backs, and their hands, and their wings, and the wheels, were full of eyes round about, even the wheels that they four had. %%% N'omubiri gwabwe gwonna n'amabega gaabwe n'emikono gyabwe n'ebiwaawaatiro byabwe ne bannamuziga byali bijjudde amaaso enjuyi zonna, bannanuziga abo abana be baalina. 26EZE010.013 As for the wheels, it was cried unto them in my hearing, O wheel. %%% Bannamuziga, baabayita nze nga mpulira bannamuziga abeetooloola abawulukuka. 26EZE010.014 And every one had four faces: the first face was the face of a cherub, and the second face was the face of a man, and the third the face of a lion, and the fourth the face of an eagle. %%% Era buli omu yalina obwenyi buna: obwenyi obw'olubereberye bwali bwenyi bwa kerubi, n'obwenyi obw'okubiri bwali bwenyi bwa muntu, n'obwenyi obw'okusatu bwenyi bwa mpologoma, n'obw'okuna bwenyi bwa mpungu. 26EZE010.015 And the cherubims were lifted up. This is the living creature that I saw by the river of Chebar. %%% Era bakerubi baalinnya waggulu: ekyo kye kiramu kye nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali. 26EZE010.016 And when the cherubims went, the wheels went by them: and when the cherubims lifted up their wings to mount up from the earth, the same wheels also turned not from beside them. %%% Era bakerubi bwe baatambulanga, bannamuziga ne batambulira ku mabbali gaabwe: era bakerubi bwe baayimusanga ebiwaawaatiro byabwe okulinnya okuva ku ttakka, so ne bannamuziga tebaakyukanga okuva ku mabbali gaabwe. 26EZE010.017 When they stood, these stood; and when they were lifted up, these lifted up themselves also: for the spirit of the living creature was in them. %%% Abo bwe baayimiriranga, ne bano ne bayimirira; era bo bwe balinnyanga waggulu, ne bano ne balinnyira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ekiramu gwali mu bo. 26EZE010.018 Then the glory of the LORD departed from off the threshold of the house, and stood over the cherubims. %%% Awo ekitiibwa kya Mukama ne kifuluma okuva waggulu ku mulyango gw'ennyumba ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. 26EZE010.019 And the cherubims lifted up their wings, and mounted up from the earth in my sight: when they went out, the wheels also were beside them, and every one stood at the door of the east gate of the LORD's house; and the glory of the God of Israel was over them above. %%% Era bakerubi baayimusa ebiwaawaatiro byabwe ne balinnya okuva ku ttaka nze nga ndaba bwe baafuluma, ne bannamuziga ku mabbali gaabwe: era baayimirira ku luggi olw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama; era ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu. 26EZE010.020 This is the living creature that I saw under the God of Israel by the river of Chebar; and I knew that they were the cherubims. %%% Ekyo kye kiramu kye nnalaba wansi wa Katonda wa Isiraeri ku mabbali g'omugga Kebali; ne mmanya nga be bakerubi. 26EZE010.021 Every one had four faces apiece, and every one four wings; and the likeness of the hands of a man was under their wings. %%% Buli omu yalina obwenyi buna kinnoomu, era buli omu ebiwaawaatiro bina; n'ekifaananyi eky'emikono gy'omuntu kyali wansi w'ebiwaawaatiro byabwe. 26EZE010.022 And the likeness of their faces was the same faces which I saw by the river of Chebar, their appearances and themselves: they went every one straight forward. %%% Era ekifaananyi eky'obwenyi bwabwe, bwe bwali obwenyi bwe nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali, embala zaabwe nabo bennyini; bonna baatambulanga nga beesimba. 26EZE011.001 Moreover the spirit lifted me up, and brought me unto the east gate of the LORD's house, which looketh eastward: and behold at the door of the gate five and twenty men; among whom I saw Jaazaniah the son of Azur, and Pelatiah the son of Benaiah, princes of the people. %%% Era nate omwoyo ne gunsitula ne guntwala eri omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama ogutunuulira ebuvanjuba: kale, laba, ku luggi olw'omulyango nga kuliko abasajja amakumi abiri mu bataano; ne ndaba wakati mu bo Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakungu ab'omu bantu. 26EZE011.002 Then said he unto me, Son of man, these are the men that devise mischief, and give wicked counsel in this city: %%% N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bano be basajja abagunja obutali butuukirivu, era abawa okuteesa okubi mu kibuga kino: 26EZE011.003 Which say, It is not near; let us build houses: this city is the caldron, and we be the flesh. %%% aboogera nti Ekiseera tekiri kumpi okuzimba ennyumba: ekibuga kino ye ntamu, naffe nnyama. 26EZE011.004 Therefore prophesy against them, prophesy, O son of man. %%% Kale obalagulireko, lagula, ai omwana w'omuntu. 26EZE011.005 And the Spirit of the LORD fell upon me, and said unto me, Speak; Thus saith the LORD; Thus have ye said, O house of Israel: for I know the things that come into your mind, every one of them. %%%Awo omwoyo gwa Mukama ne gungwako, n'aŋŋamba nti Yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutyo bwe mwogedde, ai ennyumba ya Isiraeri; kubanga mmanyi ebigambo ebiyingira mu mwoyo gwammwe. 26EZE011.006 Ye have multiplied your slain in this city, and ye have filled the streets thereof with the slain. %%% Mwazizza abammwe abattibwa mu kibuga kino, era mujjuzizza enguudo zaakyo abo abattibwa. 26EZE011.007 Therefore thus saith the Lord GOD; Your slain whom ye have laid in the midst of it, they are the flesh, and this city is the caldron: but I will bring you forth out of the midst of it. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Abammwe abattibwa be mutadde wakati mu kyo, abo ye nnyama, n'ekibuga ye ntamu: naye mmwe muliggibwa wakati mu kyo. 26EZE011.008 Ye have feared the sword; and I will bring a sword upon you, saith the Lord GOD. %%% Mutidde ekitala; nange ndibaleetako ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE011.009 And I will bring you out of the midst thereof, and deliver you into the hands of strangers, and will execute judgments among you. %%% Era ndibaggya wakati mu kyo, ne mbawaayo mu mikono gya bannaggwanga, era ndituukiriza mu mmwe emisango. 26EZE011.010 Ye shall fall by the sword; I will judge you in the border of Israel; and ye shall know that I am the LORD. %%% Muligwa n'ekitala; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE011.011 This city shall not be your caldron, neither shall ye be the flesh in the midst thereof; but I will judge you in the border of Israel: %%% Ekibuga kino si kye kiriba entamu yammwe, so nammwe si mmwe muliba ennyama wakati mu kyo; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri; 26EZE011.012 And ye shall know that I am the LORD: for ye have not walked in my statutes, neither executed my judgments, but have done after the manners of the heathen that are round about you. 26EZE011.013 And it came to pass, when I prophesied, that Pelatiah the son of Benaiah died. Then fell I down upon my face, and cried with a loud voice, and said, Ah Lord GOD! wilt thou make a full end of the remnant of Israel? %%% Awo olwatuuka bwe nnalagula, Peratiya mutabani wa Benaya n'afa. Awo ne nvuunama amaaso gange, ne nkaaba n'eddoboozi ddene ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoomaliwaro ddala ekitundu kya Isiraeri ekifisseewo? 26EZE011.014 Again the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE011.015 Son of man, thy brethren, even thy brethren, the men of thy kindred, and all the house of Israel wholly, are they unto whom the inhabitants of Jerusalem have said, Get you far from the LORD: unto us is this land given in possession. %%% Omwana w'omuntu, baganda bo, abasajja ab'ekika kyammwe, n'ennyumba yonna eya Isiraeri, bonna, be baabo abagambiddwa abo abali mu Yerusaalemi nti Mwesambe wala Mukama: ffe ensi eno etuweereddwa okuba obutaka: 26EZE011.016 Therefore say, Thus saith the Lord GOD; Although I have cast them far off among the heathen, and although I have scattered them among the countries, yet will I be to them as a little sanctuary in the countries where they shall come. %%% kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga nabajjulula ne mbatwala wala mu mawanga, era kubanga mbasaasaanyizza mu nsi nnyingi era naye ndiba gye bali ekifo ekitukuvu ekiseera ekitono mu nsi gye batuuse. 26EZE011.017 Therefore say, Thus saith the Lord GOD; I will even gather you from the people, and assemble you out of the countries where ye have been scattered, and I will give you the land of Israel. %%% Kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mbayoola okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, era ndibawa ensi ya Isiraeri. 26EZE011.018 And they shall come thither, and they shall take away all the detestable things thereof and all the abominations thereof from thence. %%% Kale balijjayo, ne baggyawo ebintu byayo byonna eby'ebivve n'emizizo gyayo gyonna ne bagimalayo. 26EZE011.019 And I will give them one heart, and I will put a new spirit within you; and I will take the stony heart out of their flesh, and will give them an heart of flesh: %%% Era ndibawa omutima gumu, era nditeeka omwoyo omuggya mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mutima gwabwe, ne mbawa omutima ogw'ennyama: 26EZE011.020 That they may walk in my statutes, and keep mine ordinances, and do them: and they shall be my people, and I will be their God. %%% balyoke batambulirenga mu mateeka gange ne bakwata ebyo bye nnassaawo ne babikola: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe. 26EZE011.021 But as for them whose heart walketh after the heart of their detestable things and their abominations, I will recompense their way upon their own heads, saith the Lord GOD. %%% Naye abo, omutima gwabwe gutambula okugoberera omutima ogw'ebintu byabwe eby'ebivve n'emizizo gyabwe, ndireeta ekkubo lyabwe ku mitwe gyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE011.022 Then did the cherubims lift up their wings, and the wheels beside them; and the glory of the God of Israel was over them above. %%% Awo bakerubi ne balyoka bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ne bannamuziga nga bali ku mabbali gaabwe; n'ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu. 26EZE011.023 And the glory of the LORD went up from the midst of the city, and stood upon the mountain which is on the east side of the city. %%% N'ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva wakati mu kibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba. 26EZE011.024 Afterwards the spirit took me up, and brought me in a vision by the Spirit of God into Chaldea, to them of the captivity. So the vision that I had seen went up from me. %%% Omwoyo ne gunsitula ne guntwalira mu kwolesebwa olw'omwoyo gwa Katonda e Bukaludaaya eri ab'obusibe. Awo okwolesebwa kwe nnali ndabye ne kulinnya okunvaako. 26EZE011.025 Then I spake unto them of the captivity all the things that the LORD had shewed me. %%% Awo ne njogera n'ab'obusibe ebigambo byonna Mukama bye yali andaze. 26EZE012.001 The word of the LORD also came unto me, saying, %%% Era ekigambo kya Mukama kyanjijira nga kyogera nti 26EZE012.002 Son of man, thou dwellest in the midst of a rebellious house, which have eyes to see, and see not; they have ears to hear, and hear not: for they are a rebellious house. %%% Omwana w'omuntu, obeera wakati mu nnyumba eyo enjeemu abalina amaaso ag'okulaba so tebalaba, abalina amatu ag'okuwulira so tebawulira; kubanga nnyumba njeemu. 26EZE012.003 Therefore, thou son of man, prepare thee stuff for removing, and remove by day in their sight; and thou shalt remove from thy place to another place in their sight: it may be they will consider, though they be a rebellious house. %%% Kale, ggwe omwana w'omuntu, weetegekere ebintu eby'obuwaŋŋanguse, ositule okusenguka misana bo nga balaba; era olisenguka mu kifo kyo n'odda mu kifo ekirala bo nga balaba: mpozzi balirowooza, newakubadde nga nnyumba njeemu. 26EZE012.004 Then shalt thou bring forth thy stuff by day in their sight, as stuff for removing: and thou shalt go forth at even in their sight, as they that go forth into captivity. %%% Era oliggyamu ebintu misana bo nga balaba, ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse: era olivaamu wekka akawungeezi bo nga balaba, ng'abantu bwe bavaamu abagobebwa ewaabwe. 26EZE012.005 Dig thou through the wall in their sight, and carry out thereby. %%% Sima ekisenge bo nga balaba, oyiseemu ebintu. 26EZE012.006 In their sight shalt thou bear it upon thy shoulders, and carry it forth in the twilight: thou shalt cover thy face, that thou see not the ground: for I have set thee for a sign unto the house of Israel. %%% Bisitulire ku kibegabega kyo bo nga balaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri. 26EZE012.007 And I did so as I was commanded: I brought forth my stuff by day, as stuff for captivity, and in the even I digged through the wall with mine hand; I brought it forth in the twilight, and I bare it upon my shoulder in their sight. %%% Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: naggyamu ebintu byange emisana ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekisenge n'omukono gwange; ne mbiggyamu ekizikiza nga kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bo nga balaba. 26EZE012.008 And in the morning came the word of the LORD unto me, saying, %%% Awo enkya ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE012.009 Son of man, hath not the house of Israel, the rebellious house, said unto thee, What doest thou? %%% Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri, ennyumba enjeemu, tebakugambye nti Okola ki? 26EZE012.010 Say thou unto them, Thus saith the Lord GOD; This burden concerneth the prince in Jerusalem, and all the house of Israel that are among them. %%% Bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n'ennyumba yonna eya Isiraeri be balimu. 26EZE012.011 Say, I am your sign: like as I have done, so shall it be done unto them: they shall remove and go into captivity. %%% Yogera nti Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa ewaabwe okugenda mu busibe. 26EZE012.012 And the prince that is among them shall bear upon his shoulder in the twilight, and shall go forth: they shall dig through the wall to carry out thereby: he shall cover his face, that he see not the ground with his eyes. %%% N'omulangira ali mu bo alisitulira ku kibegabega kye ekizikiza nga kikutte n'afuluma; balisima mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya: alibikka ku maaso ge, kubanga taliraba ttaka n'amaaso ge. 26EZE012.013 My net also will I spread upon him, and he shall be taken in my snare: and I will bring him to Babylon to the land of the Chaldeans; yet shall he not see it, though he shall die there. %%% Era ndimusuulako ekitimba kyange, era aliteegebwa mu kyambika kyange: era ndimutwala e Babulooni mu nsi ey'Abakaludaaya: era naye talikiraba, newakubadde ng'alifiira eyo. 26EZE012.014 And I will scatter toward every wind all that are about him to help him, and all his bands; and I will draw out the sword after them. %%% Era ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n'ebibiina bye byonna; era ndisowola ekitala ekiribagoberera. 26EZE012.015 And they shall know that I am the LORD, when I shall scatter them among the nations, and disperse them in the countries. %%% Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi. 26EZE012.016 But I will leave a few men of them from the sword, from the famine, and from the pestilence; that they may declare all their abominations among the heathen whither they come; and they shall know that I am the LORD. %%% Naye ndirekawo ku bo abasajja batono abaliwona ekitala n'enjala ne kawumpuli; balyoke babuulirenga emizizo gyabwe gyonna mu mawanga gye balituuka; kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE012.017 Moreover the word of the LORD came to me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE012.018 Son of man, eat thy bread with quaking, and drink thy water with trembling and with carefulness; %%% Omwana w'omuntu, lya emmere yo ng'okankana, onywe amazzi ng'ojugumira era nga weeraliikirira; ogambe abantu ab'omu nsi, nti 26EZE012.019 And say unto the people of the land, Thus saith the Lord GOD of the inhabitants of Jerusalem, and of the land of Israel; They shall eat their bread with carefulness, and drink their water with astonishment, that her land may be desolate from all that is therein, because of the violence of all them that dwell therein. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'ensi ya Isiraeri nti Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaakyo erekebwewo byonna ebirimu olw'ekyejo ky'abo bonna abatuulamu. 26EZE012.020 And the cities that are inhabited shall be laid waste, and the land shall be desolate; and ye shall know that I am the LORD. %%% N'ebibuga ebibeerwamu birizisibwa, n'ensi eriba matongo; kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE012.021 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE012.022 Son of man, what is that proverb that ye have in the land of Israel, saying, The days are prolonged, and every vision faileth? %%% Omwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti Ennaku ziyitirira, era buli kwolesebwa kubula? 26EZE012.023 Tell them therefore, Thus saith the Lord GOD; I will make this proverb to cease, and they shall no more use it as a proverb in Israel; but say unto them, The days are at hand, and the effect of every vision. %%% Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikomya olugero olwo, so tebalirugera nate mu Isiraeri okuba olugero; naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, n'okutuukiriza buli kwolesebwa. 26EZE012.024 For there shall be no more any vain vision nor flattering divination within the house of Israel. %%% Kubanga tewalibaawo nate kwolesebwa okw'obwereere newakubadde obulaguzi obunyumiriza mu nnyumba ya Isiraeri. 26EZE012.025 For I am the LORD: I will speak, and the word that I shall speak shall come to pass; it shall be no more prolonged: for in your days, O rebellious house, will I say the word, and will perform it, saith the Lord GOD. %%% Kubanga nze Mukama; ndyogera n'ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ai ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE012.026 Again the word of the LORD came to me, saying, %%% Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE012.027 Son of man, behold, they of the house of Israel say, The vision that he seeth is for many days to come, and he prophesieth of the times that are far off. %%% Omwana w'omuntu, laba, ab'omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti Okwolesebwa kwalaba kwa mu nnaku nnyingi ezitannajja, era alagula eby'ebiro ebikyali ewala. 26EZE012.028 Therefore say unto them, Thus saith the Lord GOD; There shall none of my words be prolonged any more, but the word which I have spoken shall be done, saith the Lord GOD. %%% Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE013.001 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE013.002 Son of man, prophesy against the prophets of Israel that prophesy, and say thou unto them that prophesy out of their own hearts, Hear ye the word of the LORD; %%% Omwana w'omuntu, lagulira ki bannabbi ba Isiraeri abalagula obagambe abo abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo, nti Muwulire ekigambo kya Mukama; 26EZE013.003 Thus saith the Lord GOD; Woe unto the foolish prophets, that follow their own spirit, and have seen nothing! %%% bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe bo, so nga tebaliiko kye balabye! 26EZE013.004 O Israel, thy prophets are like the foxes in the deserts. %%% Ai Isiaeri, bannabbi bo baabanga ng'ebibe mu bifo ebyalekebwawo. 26EZE013.005 Ye have not gone up into the gaps, neither made up the hedge for the house of Israel to stand in the battle in the day of the LORD. %%% Temwambukanga mu bituli ebyawagulwa, so temuddaabiririzanga nnyumba ya Isiraeri olukomera, muyimirire mu lutalo ku lunaku lwa Mukama. 26EZE013.006 They have seen vanity and lying divination, saying, The LORD saith: and the LORD hath not sent them: and they have made others to hope that they would confirm the word. %%% Balabye ebitaliimu n’obulaguzi obw'obulimba abo aboogera nti Mukama ayogera; so nga Mukama tabatumye: era basuubizizza abantu ng'ekigambo kigenda kunywezebwa. 26EZE013.007 Have ye not seen a vain vision, and have ye not spoken a lying divination, whereas ye say, The LORD saith it; albeit I have not spoken? %%% Temulabye kwolesebwa okutaliimu, era temwogedde bulaguzi bwa bulimba, kubanga mwogera nti Mukama ayogera: era naye soogeranga? 26EZE013.008 Therefore thus saith the Lord GOD; Because ye have spoken vanity, and seen lies, therefore, behold, I am against you, saith the Lord GOD. %%% Mukama Katonda kyava ayogera nti Kubanga mwogedde ebitaliimu, era mulabye eby'obulimba, kale, laba, ndi mulabe wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE013.009 And mine hand shall be upon the prophets that see vanity, and that divine lies: they shall not be in the assembly of my people, neither shall they be written in the writing of the house of Israel, neither shall they enter into the land of Israel; and ye shall know that I am the Lord GOD. %%% Era omukono gwange guliba nulabe wa bannabbi abalaba ebitaliimu ne balagula eby'obulimba: tebaliba mu abo abateesa ab'omu bantu bange, so tebaliwandiikibwa nu kiwandiike eky'ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama Katonda. 26EZE013.010 Because, even because they have seduced my people, saying, Peace; and there was no peace; and one built up a wall, and, lo, others daubed it with untempered morter: %%% Kubanga, weewaawo, kubanga basenzesenze abantu bange, nga boogera nti Mirembe; so nga tewali mirembe; era omuntu bw'azimba ekisenge, laba, bakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi: 26EZE013.011 Say unto them which daub it with untempered morter, that it shall fall: there shall be an overflowing shower; and ye, O great hailstones, shall fall; and a stormy wind shall rend it. %%% bagambe abo abakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi nga kirigwa: walibaawo enkuba ekulukuta ennyo; nammwe, amayinja ag'omuzira amanene, muligwa; ne kibuyaga omungi alikimenya. 26EZE013.012 Lo, when the wall is fallen, shall it not be said unto you, Where is the daubing wherewith ye have daubed it? %%% Laba, ekisenge bwe kiriba nga kigudde, temuligambibwa nti Okusiigako kwe mwakisiigako kuli ludda wa? 26EZE013.013 Therefore thus saith the Lord GOD; I will even rend it with a stormy wind in my fury; and there shall be an overflowing shower in mine anger, and great hailstones in my fury to consume it. %%% Kale bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikimenyera ddala ne kibuyaga mungi nga ndiko ekiruyi; era walibaawo enkuba ekulukuta ennyo nga ndiko obusungu, n'amayinja ag'omuzira amanene okukimalawo. 26EZE013.014 So will I break down the wall that ye have daubed with untempered morter, and bring it down to the ground, so that the foundation thereof shall be discovered, and it shall fall, and ye shall be consumed in the midst thereof: and ye shall know that I am the LORD. %%% Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi, ne nkissa wansi, omusingi gwakyo n'okweruka ne gweruka: era kirigwa, nammwe mulimalibwawo wakati mu kyo: kale mulimanya nga nze Mukama: 26EZE013.015 Thus will I accomplish my wrath upon the wall, and upon them that have daubed it with untempered morter, and will say unto you, The wall is no more, neither they that daubed it; %%% Bwe ntyo bwe ndituukiriza ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi; era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako; 26EZE013.016 To wit, the prophets of Israel which prophesy concerning Jerusalem, and which see visions of peace for her, and there is no peace, saith the Lord GOD. %%% be bannabbi ba Isiraeri abalagula ebya Yerusaalemi era abakirabira okwolesebwa okw'emirembe, so nga tewali mirembe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE013.017 Likewise, thou son of man, set thy face against the daughters of thy people, which prophesy out of their own heart; and prophesy thou against them, %%% Naawe, omwana w'omuntu, kakasa amaaso go okwolekera abawala b'abantu bo, abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo; era balagulireko 26EZE013.018 And say, Thus saith the Lord GOD; Woe to the women that sew pillows to all armholes, and make kerchiefs upon the head of every stature to hunt souls! Will ye hunt the souls of my people, and will ye save the souls alive that come unto you? %%% oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abakazi abatungira ebigugu ku nkokola zonna, era abakolera ebiwero emitwe gy'abantu aba buli kigera okuyigga obulamu Muliyigga obulamu bw'abantu bange, ne muwonya mwekka obulamu bwammwe okufa? 26EZE013.019 And will ye pollute me among my people for handfuls of barley and for pieces of bread, to slay the souls that should not die, and to save the souls alive that should not live, by your lying to my people that hear your lies? %%% Era mwanvumisa mu bantu bange olw'embatu eza sayiri n'olw'ebitole eby'emigaati okutta obulamu obutagwana kufa, n'okuwonya obulamu okufa obutagwana kuba bulamu, nga mulimba abantu bange abawulira eby'obulimba. 26EZE013.020 Wherefore thus saith the Lord GOD; Behold, I am against your pillows, wherewith ye there hunt the souls to make them fly, and I will tear them from your arms, and will let the souls go, even the souls that ye hunt to make them fly. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wa bigugu byammwe bye muyizza obulamu eyo okububuusa, era ndibisika okubiggya ku mikono gyammwe; era nditta obulamu, obulamu obwo bwe muyigga okububuusa. 26EZE013.021 Your kerchiefs also will I tear, and deliver my people out of your hand, and they shall be no more in your hand to be hunted; and ye shall know that I am the LORD. %%% Era n'ebiwero byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE013.022 Because with lies ye have made the heart of the righteous sad, whom I have not made sad; and strengthened the hands of the wicked, that he should not return from his wicked way, by promising him life: %%% Kubanga muwuubazizza n'eby'obulimba omutima gw'omutuukirivu nze gwe siwuubaazanga; ne munyweza emikono gy'omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n'awona nga mulamu: 26EZE013.023 Therefore ye shall see no more vanity, nor divine divinations: for I will deliver my people out of your hand: and ye shall know that I am the LORD. %%% kyemuliva mulema okulaba nate ebitaliimu newakubadde okulagula obulaguzi: nange ndiwonya abantu bange mu mukono gwammwe; kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE014.001 Then came certain of the elders of Israel unto me, and sat before me. %%% Awo abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja gye ndi ne batuula mu maaso gange. 26EZE014.002 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE014.003 Son of man, these men have set up their idols in their heart, and put the stumblingblock of their iniquity before their face: should I be enquired of at all by them? %%% Omwana w'omuntu, abasajja bano batutte ebifaananyi byabwe mu mutima gwabwe, era batadde enkonge ey'obutali butuukirivu mu maaso gaabwe: nnyinza ntya abo okumbuuza n'akamu kokka? 26EZE014.004 Therefore speak unto them, and say unto them, Thus saith the Lord GOD; Every man of the house of Israel that setteth up his idols in his heart, and putteth the stumblingblock of his iniquity before his face, and cometh to the prophet; I the LORD will answer him that cometh according to the multitude of his idols; %%% Kale yogera nabo obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe, n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli; 26EZE014.005 That I may take the house of Israel in their own heart, because they are all estranged from me through their idols. %%% ndyoke nkwase ennyumba ya Isiraeri omutima gwabwe bo, kubanga bonna banneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe. 26EZE014.006 Therefore say unto the house of Israel, Thus saith the Lord GOD; Repent, and turn yourselves from your idols; and turn away your faces from all your abominations. %%% Kale bagambe ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mudde mukyuke okuleka ebifaananyi byammwe; era mukyuse amaaso gammwe okuleka emizizo gyammwe gyonna. 26EZE014.007 For every one of the house of Israel, or of the stranger that sojourneth in Israel, which separateth himself from me, and setteth up his idols in his heart, and putteth the stumblingblock of his iniquity before his face, and cometh to a prophet to enquire of him concerning me; I the LORD will answer him by myself: %%% Kubanga buli muntu ow'omu nayumba ya Isiraeri oba ow'okubannaggwanga ababeera mu Isiraeri eyeeyawula nange n'atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama ndimuddamu nze mwene: 26EZE014.008 And I will set my face against that man, and will make him a sign and a proverb, and I will cut him off from the midst of my people; and ye shall know that I am the LORD. %%% era ndikakasa amaaso gange okwolekera omuntu oyo, era ndimufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE014.009 And if the prophet be deceived when he hath spoken a thing, I the LORD have deceived that prophet, and I will stretch out my hand upon him, and will destroy him from the midst of my people Israel. %%% Era oba nga nnabbi alirimbibwa n'ayogera ekigambo, nze Mukama nga nnimbye nnabbi oyo, era ndimugololerako omukono gwange, ne mmuzikiriza wakati mu bantu bange Isiraeri. 26EZE014.010 And they shall bear the punishment of their iniquity: the punishment of the prophet shall be even as the punishment of him that seeketh unto him; %%% Era balyetikka obutali butuukirivu bwabwe: obutali butuukirivu bwa nnabbi bulyenkanira ddala obutali butuukirivu bw'oyo amwebuuzaako; 26EZE014.011 That the house of Israel may go no more astray from me, neither be polluted any more with all their transgressions; but that they may be my people, and I may be their God, saith the Lord GOD. %%% ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE014.012 The word of the LORD came again to me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE014.013 Son of man, when the land sinneth against me by trespassing grievously, then will I stretch out mine hand upon it, and will break the staff of the bread thereof, and will send famine upon it, and will cut off man and beast from it: %%% Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ng'esobezza, nange ne ngigololerako omukono gwange ne mmenya omuggo ogw'emigaati gyamu, ne ngiweerezaako enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo; 26EZE014.014 Though these three men, Noah, Daniel, and Job, were in it, they should deliver but their own souls by their righteousness, saith the Lord GOD. %%% abo bonsatule, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu, newakubadde nga baali omwo, bandiwonyezza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE014.015 If I cause noisome beasts to pass through the land, and they spoil it, so that it be desolate, that no man may pass through because of the beasts: %%% Bwe ndiyisa ensolo embi mu nsi n'okugyonoona ne zigyonoona n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo; 26EZE014.016 Though these three men were in it, as I live, saith the Lord GOD, they shall deliver neither sons nor daughters; they only shall be delivered, but the land shall be desolate. %%% abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika. 26EZE014.017 Or if I bring a sword upon that land, and say, Sword, go through the land; so that I cut off man and beast from it: %%% Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ne njogera nti Ekitala, yita mu nsi; n'okumalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo; 26EZE014.018 Though these three men were in it, as I live, saith the Lord GOD, they shall deliver neither sons nor daughters, but they only shall be delivered themselves. %%% abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini baliwonyezebwa bokka. 26EZE014.019 Or if I send a pestilence into that land, and pour out my fury upon it in blood, to cut off from it man and beast: %%% Oba bwe ndiweereza kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukako ekiruyi kyange mu musaayi, okugimalamu abantu n'ensolo: 26EZE014.020 Though Noah, Daniel, and Job, were in it, as I live, saith the Lord GOD, they shall deliver neither son nor daughter; they shall but deliver their own souls by their righteousness. %%% Nuuwa ne Danyeri ne Yobu newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya mutabani waabwe newakubadde muwala waabwe; baliwonya emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe. 26EZE014.021 For thus saith the Lord GOD; How much more when I send my four sore judgments upon Jerusalem, the sword, and the famine, and the noisome beast, and the pestilence, to cut off from it man and beast? %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kale tebirisinga nnyo okuba bwe bityo, bwe ndiweereza emisango gyange ena emizibu ku Yerusaalemi, ekitala n'enjala n'ensolo embi ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo? 26EZE014.022 Yet, behold, therein shall be left a remnant that shall be brought forth, both sons and daughters: behold, they shall come forth unto you, and ye shall see their way and their doings: and ye shall be comforted concerning the evil that I have brought upon Jerusalem, even concerning all that I have brought upon it. %%% Era naye mulisigalamu ekitundu ekifisseewo ekiriggibwamu ne kitwalibwa, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: laba, balifuluma balijja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulisanyusibwa mu bubi bwe ndeese ku Yerusaalemi, olwa byonna bye nkireseeeko. 26EZE014.023 And they shall comfort you, when ye see their ways and their doings: and ye shall know that I have not done without cause all that I have done in it, saith the Lord GOD. %%% Era balibasanyusa bwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulimanya nga saabalanga bwereere okukola byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE015.001 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE015.002 Son of man, What is the vine tree more than any tree, or than a branch which is among the trees of the forest? %%% Omwana w'omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omuti gwonna, oba ettabi ery'ogumu ku miti egy'omu kibira? 26EZE015.003 Shall wood be taken thereof to do any work? or will men take a pin of it to hang any vessel thereon? %%% Banaggyangako emiti okukola omulimu gwonna? oba abantu banaggyangako ekikondo okuwanikako ekintu kyonna? 26EZE015.004 Behold, it is cast into the fire for fuel; the fire devoureth both the ends of it, and the midst of it is burned. Is it meet for any work? %%% Laba, bagusuula mu muliro okuba enku: omuliro gugwokezza eruuyi n'eruuyi ne wakati waagwo wayidde; guliko kye gugasa olw'omulimu gwonna? 26EZE015.005 Behold, when it was whole, it was meet for no work: how much less shall it be meet yet for any work, when the fire hath devoured it, and it is burned? %%% Laba, bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwasaanira mulimu gwonna: kale omuliro nga gugwokezza era nga guyidde gukyasaanira gutya omulimu gwonna? 26EZE015.006 Therefore thus saith the Lord GOD; As the vine tree among the trees of the forest, which I have given to the fire for fuel, so will I give the inhabitants of Jerusalem. %%% Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ng'omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, gwe mpaddeyo eri omuliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi. 26EZE015.007 And I will set my face against them; they shall go out from one fire, and another fire shall devour them; and ye shall know that I am the LORD, when I set my face against them. %%% Era ndikakasa amaaso gange okuboolekera; balifuluma mu muliro, naye omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndikakasa amaaso gange okuboolekera. 26EZE015.008 And I will make the land desolate, because they have committed a trespass, saith the Lord GOD. %%% Era ndizisa ensi kubanga basobezza, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE016.001 Again the word of the LORD came unto me, saying, %%% Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE016.002 Son of man, cause Jerusalem to know her abominations, %%% Omwana w'omuntu, manyisa Yerusaalemi emizizo gyakyo, 26EZE016.003 And say, Thus saith the Lord GOD unto Jerusalem; Thy birth and thy nativity is of the land of Canaan; thy father was an Amorite, and thy mother an Hittite. %%% oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti. 26EZE016.004 And as for thy nativity, in the day thou wast born thy navel was not cut, neither wast thou washed in water to supple thee; thou wast not salted at all, nor swaddled at all. %%% Era eby'okuzaalibwa kwo ku lunaku kwe wazaalirwa tewasalibwa kalira, so tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewateekebwamu munnyo n'akatono, so tewabikkibwako n'akatono. 26EZE016.005 None eye pitied thee, to do any of these unto thee, to have compassion upon thee; but thou wast cast out in the open field, to the lothing of thy person, in the day that thou wast born. %%% Tewali liiso eryakusaasira okukukola ku ebyo byonna, okukukwatirwa ekisa; naye n'osuulibwa mu ttale ebweru, kubanga wakyayibwa ggwe ku lunaku kwe wazaalirwa. 26EZE016.006 And when I passed by thee, and saw thee polluted in thine own blood, I said unto thee when thou wast in thy blood, Live; yea, I said unto thee when thou wast in thy blood, Live. %%% Awo bwe nnakuyitako ne nkulabanga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu: weewaawo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu. 26EZE016.007 I have caused thee to multiply as the bud of the field, and thou hast increased and waxen great, and thou art come to excellent ornaments: thy breasts are fashioned, and thine hair is grown, whereas thou wast naked and bare. %%% Ne nkwaza ng'ekimuli eky'omu nnimiro, ne weeyongera n'ofuuka mukulu, n'otuuka ku buyonjo obulungi ennyo; amabeere go ne gamera, enviiri zo ne zikula; era naye ng'oli bwereere nga tobikkiddwako. 26EZE016.008 Now when I passed by thee, and looked upon thee, behold, thy time was the time of love; and I spread my skirt over thee, and covered thy nakedness: yea, I sware unto thee, and entered into a covenant with thee, saith the Lord GOD, and thou becamest mine. %%% Awo bwe nnakuyitako ne nkutunuulira, laba, ekiseera kyo nga kye kiseera eky'okwagalirwamu; ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo: weewaawo, ne nkulayirira, ne ndagaana naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange. 26EZE016.009 Then washed I thee with water; yea, I throughly washed away thy blood from thee, and I anointed thee with oil. %%% Awo ne nkunaaza n'amazzi; weewaawo, ne nkunaalizaako ddala omusaayi gwo, ne nkusiigako amafuta. 26EZE016.010 I clothed thee also with broidered work, and shod thee with badgers' skin, and I girded thee about with fine linen, and I covered thee with silk. %%% N'okwambaza ne nkwambaza omulimu ogw'eddalizi, ne nkunaanika engato ez'amaliba g'eŋŋonge ne nkusiba olwebagyo olwa bafuta ennungi, ne nkubikkako aliiri. 26EZE016.011 I decked thee also with ornaments, and I put bracelets upon thy hands, and a chain on thy neck. %%% Era ne nkunaanika eby'obuyonjo, ne nteeka ebikomo ku mikono gyo n'omukuufu mu bulago bwo. 26EZE016.012 And I put a jewel on thy forehead, and earrings in thine ears, and a beautiful crown upon thine head. %%% Ne nteeka empeta ku nnyindo yo, n'eby'omu matu mu matu go n'engule ennungi ku mutwe gwo. 26EZE016.013 Thus wast thou decked with gold and silver; and thy raiment was of fine linen, and silk, and broidered work; thou didst eat fine flour, and honey, and oil: and thou wast exceeding beautiful, and thou didst prosper into a kingdom. %%% Bwe wayonjebwa bw'otyo n'ezaabu n'effeeza; n'ebyambalo byo byali bya bafuta nnungi ne aliiri n'omulimu ogw'eddalizi; walyanga obutta obulungi n'omubisi gw'enjuki n'amafuta: n'oba mulungi nnyo nnyini, n'olaba omukisa okutuusa mu bukulu obw'obwakabaka. 26EZE016.014 And thy renown went forth among the heathen for thy beauty: for it was perfect through my comeliness, which I had put upon thee, saith the Lord GOD. %%% Ettutumu lyo ne lyatiikirira mu mawanga olw'obulungi bwo; kubanga bwali butuukiridde olw'obukulu bwange bwe nnali nkutaddeko bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE016.015 But thou didst trust in thine own beauty, and playedst the harlot because of thy renown, and pouredst out thy fornications on every one that passed by; his it was. %%% Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, ne weefuula omwenzi olw'ettutumu lyo, n'ofuka obukaba bwo ku buli muntu eyayitangawo; bwabanga bubwe. 26EZE016.016 And of thy garments thou didst take, and deckedst thy high places with divers colours, and playedst the harlot thereupon: the like things shall not come, neither shall it be so. %%% Era watoola ku byambalo byo, ne weekolera ebifo ebigulumivu ebyayonjebwa n'amabala agatali gamu, n'oyendera ku byo: ebifaanana bwe bityo tebirijja so tebiriba bwe bityo. 26EZE016.017 Thou hast also taken thy fair jewels of my gold and of my silver, which I had given thee, and madest to thyself images of men, and didst commit whoredom with them, %%% N'okuddira n'oddira eby'obuyonjo bwo ebirungi ebya zaabu yange n'ebya ffeeza yange bye nnali nkuwadde, ne weekolera ebifaananyi by'abantu, n'oyenda ku byo: 26EZE016.018 And tookest thy broidered garments, and coveredst them: and thou hast set mine oil and mine incense before them. %%% n'oddira ebyambalo byo eby'eddalizi, n'obibikkako n'oteeka amafuta gange n'obubaane bwange mu maaso gaabyo. 26EZE016.019 My meat also which I gave thee, fine flour, and oil, and honey, wherewith I fed thee, thou hast even set it before them for a sweet savour: and thus it was, saith the Lord GOD. %%% Era n'emmere yange gye nnakuwa, obutta obulungi n'amafuta n'omubisi gw'enjuki, bye nnakuliisanga, n'okuteeka n'obiteeka mu maaso gaabyo okuba evvumbe eddungi, ne biba bwe bityo, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE016.020 Moreover thou hast taken thy sons and thy daughters, whom thou hast borne unto me, and these hast thou sacrificed unto them to be devoured. Is this of thy whoredoms a small matter, %%% Era nate waddira abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, be wanzaalira, abo n'obawaayo okuba ssaddaaka eri byo okuliibwa. Obwenzi bwo kyali kigambo kitono, 26EZE016.021 That thou hast slain my children, and delivered them to cause them to pass through the fire for them? %%% n'okutta n'otta abaana bange, n'obawaayo ng'obayisa mu muliro eri byo? 26EZE016.022 And in all thine abominations and thy whoredoms thou hast not remembered the days of thy youth, when thou wast naked and bare, and wast polluted in thy blood. %%% Era mu mizizo gyo gyonna ne mu bwenzi bwo tojjukiranga nnaku za buto bwo, bwe wali obwereere nga tobikkiddwako, era nga weekulukuunya mu musaayi gwo. 26EZE016.023 And it came to pass after all thy wickedness, (woe, woe unto thee! saith the LORD GOD;) %%% Awo olutuuse obubi bwo bwonna nga bumaze okubaawo, (zikusanze, zikusanze! bw'ayogera Mukama Katonda,) 26EZE016.024 That thou hast also built unto thee an eminent place, and hast made thee an high place in every street. %%% weezimbidde ekifo ekikulumbala ne weekolera ekifo ekigulumivu mu buli luguudo. 26EZE016.025 Thou hast built thy high place at every head of the way, and hast made thy beauty to be abhorred, and hast opened thy feet to every one that passed by, and multiplied thy whoredoms. %%% Ozimbye ekifo kyo ekigulumivu buli luguudo we lusibuka, era ofudde obulungi bwo okuba eky'omuzizo, era obikkulidde ku bigere buli muyise n'oyongera ku bwenzi bwo. 26EZE016.026 Thou hast also committed fornication with the Egyptians thy neighbours, great of flesh; and hast increased thy whoredoms, to provoke me to anger. %%% Era oyenze ku Bamisiri, baliraanwa bo, ab'omubiri omunene; n'oyongera ku bwenzi bwo okunsunguwaza. 26EZE016.027 Behold, therefore I have stretched out my hand over thee, and have diminished thine ordinary food, and delivered thee unto the will of them that hate thee, the daughters of the Philistines, which are ashamed of thy lewd way. %%%9 Kale, laba, nkugololeddeko omukono gwange, era nkendeezezza emmere yo eya bulijjo, ne nkuwaayo eri okwagala kw'abo abakukyawa, abawala b'Abafirisuuti abakwatiddwa ensonyi ekkubo lyo ery'obukaba. 26EZE016.028 Thou hast played the whore also with the Assyrians, because thou wast unsatiable; yea, thou hast played the harlot with them, and yet couldest not be satisfied. %%% Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tewayinza kukkuta; weewaawo, oyenze ku bo, era naye tewanyiwa. 26EZE016.029 Thou hast moreover multiplied thy fornication in the land of Canaan unto Chaldea; and yet thou wast not satisfied herewith. %%% Era nate wayongera ku bwenzi bwo mu nsi ya Kanani okutuusa e Bukaludaaya; era naye n'obwo tebwakunyiya. 26EZE016.030 How weak is thine heart, saith the LORD GOD, seeing thou doest all these things, the work of an imperious whorish woman; %%% Omutima gwo nga munafu! bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga okola bino byonna, omulimu ogw'omukazi ow'amawaggali omwenzi; 26EZE016.031 In that thou buildest thine eminent place in the head of every way, and makest thine high place in every street; and hast not been as an harlot, in that thou scornest hire; %%% kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lusibuka, n'okola ekifo kyo ekigulumivu mu buli luguudo; so tobanga nga mukazi mwenzi kubanga onyooma empeera. 26EZE016.032 But as a wife that committeth adultery, which taketh strangers instead of her husband! %%% Omukazi alina bba ayenda so! akkiriza abagenyi mu kifo kya bbaawe so! 26EZE016.033 They give gifts to all whores: but thou givest thy gifts to all thy lovers, and hirest them, that they may come unto thee on every side for thy whoredom. %%% Abakazi bonna abenzi babawa ebirabo: naye ggwe owa ebirabo byo baganzi bo bonna, n'obagulirira bajje gy'oli okuva mu njuyi zonna olw'obwenzi bwo. 26EZE016.034 And the contrary is in thee from other women in thy whoredoms, whereas none followeth thee to commit whoredoms: and in that thou givest a reward, and no reward is given unto thee, therefore thou art contrary. %%% Era osobezza ensobya bbiri abakazi abalala mu bwenzi bwo, kubanga tewali akugoberera ggwe okwenda: era kubanga ogulirira so toweebwa mpeera kyova osobya ensobya ebbiri. 26EZE016.035 Wherefore, O harlot, hear the word of the LORD: %%% Kale, ai omwenzi, wulira ekigambo kya Mukama: 26EZE016.036 Thus saith the Lord GOD; Because thy filthiness was poured out, and thy nakedness discovered through thy whoredoms with thy lovers, and with all the idols of thy abominations, and by the blood of thy children, which thou didst give unto them; %%% bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga empitambi yo yafukirwa ddala, n'obwereere bwo ne bubikkulwako olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo gyo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa; 26EZE016.037 Behold, therefore I will gather all thy lovers, with whom thou hast taken pleasure, and all them that thou hast loved, with all them that thou hast hated; I will even gather them round about against thee, and will discover thy nakedness unto them, that they may see all thy nakedness. %%% kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; okukuŋŋaanya ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bonna balabe obwereere bwo. 26EZE016.038 And I will judge thee, as women that break wedlock and shed blood are judged; and I will give thee blood in fury and jealousy. %%% Era ndikusalira omusango ng'abakazi abatta obufumbo ne bayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; era ndikuleetako omusaayi ogw'ekiruyi n'obuggya. 26EZE016.039 And I will also give thee into their hand, and they shall throw down thine eminent place, and shall break down thy high places: they shall strip thee also of thy clothes, and shall take thy fair jewels, and leave thee naked and bare. %%% Era ndikuwaayo mu mukono gwabwe, kale balisuula ekifo kyo ekikulumbala ne bamenyaamenya ebifo byo ebigulumivu; era balikwambula ebyambalo byo, ne banyaga eby'obuyonjo bwo ebirungi: kale balikuleka ng'oli bwereere ng'obikkuddwako. 26EZE016.040 They shall also bring up a company against thee, and they shall stone thee with stones, and thrust thee through with their swords. %%% Era balikulinnyisaako ekibiina, ne bakukuba amayinja, ne bakufumitira ddala n'ebitala byabwe. 26EZE016.041 And they shall burn thine houses with fire, and execute judgments upon thee in the sight of many women: and I will cause thee to cease from playing the harlot, and thou also shalt give no hire any more. %%% Era balyokya ennyumba zo omuliro ne batuukiriza emisango ku ggwe abakazi bangi nga balaba; era ndikulekesaayo obwenzi, so toliwaayo mpeera nate lwa kubiri. 26EZE016.042 So will I make my fury toward thee to rest, and my jealousy shall depart from thee, and I will be quiet, and will be no more angry. %%% Bwe ntyo bwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe, n'obuggya bwange bulikuvaako, ne ntereera ne ssibaako busungu nate. 26EZE016.043 Because thou hast not remembered the days of thy youth, but hast fretted me in all these things; behold, therefore I also will recompense thy way upon thine head, saith the Lord GOD: and thou shalt not commit this lewdness above all thine abominations. %%% Kubanga tojjukiranga nnaku za buto bwo, naye n'onnyiiza mu bino byonna; kale, laba, nange ndireeta ekkubo lyo ku mutwe gwo, bw'ayogera Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizo gyo gyonna. 26EZE016.044 Behold, every one that useth proverbs shall use this proverb against thee, saying, As is the mother, so is her daughter. %%% Laba, buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng'ayogera nti Nga nnyina ne muwala we bw'atyo. 26EZE016.045 Thou art thy mother's daughter, that lotheth her husband and her children; and thou art the sister of thy sisters, which lothed their husbands and their children: your mother was an Hittite, and your father an Amorite. %%% Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n'abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa ba bbaabwe: nnyammwe yali Mukiiti, ne kitammwe yali Mwamoli. 26EZE016.046 And thine elder sister is Samaria, she and her daughters that dwell at thy left hand: and thy younger sister, that dwelleth at thy right hand, is Sodom and her daughters. %%% Ne mukulu wo ye Samaliya abeera ku mukono gwo ogwa kkono, ye ne bawala be: ne mwana wannyo atuula ku mukono gwo ogwa ddyo ye Sodomu ne bawala be. 26EZE016.047 Yet hast thou not walked after their ways, nor done after their abominations: but, as if that were a very little thing, thou wast corrupted more than they in all thy ways. %%% Era naye totambuliranga mu makubo gaabwe, so tokolanga ng'emizizo gyabwe bwe giri; naye ekyo ng'okiyita kigambo kitono nnyo, n'osinga bo okuba omukyamu mu makubo go gonna. 26EZE016.048 As I live, saith the Lord GOD, Sodom thy sister hath not done, she nor her daughters, as thou hast done, thou and thy daughters. %%% Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu takolanga, ye newakubadde bawala be, nga ggwe bw'okoze, ggwe ne bawala bo. 26EZE016.049 Behold, this was the iniquity of thy sister Sodom, pride, fulness of bread, and abundance of idleness was in her and in her daughters, neither did she strengthen the hand of the poor and needy. %%% Laba, buno bwe bwali obutali butuukirivu bwa muganda wo Sodomu; amalala n'okukkutanga emmere n'okwesiima nga yeegolola byali mu ye ne mu bawala be; so teyanyweza mukono gwa mwavu n'eyeetaaga. 26EZE016.050 And they were haughty, and committed abomination before me: therefore I took them away as I saw good. %%% Era baalina ekitigi, ne bakola eby'emizizo mu maaso gange: kyennava mbaggyawo nga bwe nnasiima. 26EZE016.051 Neither hath Samaria committed half of thy sins; but thou hast multiplied thine abominations more than they, and hast justified thy sisters in all thine abominations which thou hast done. %%% So ne Samaliya takolanga kitundu kya ku bibi byo; naye ggwe wayongera ku mizizo gyo okukira bo, n'oweesa obutuukirivu baganda bo olw'emizizo gyo gyonna gye wakola. 26EZE016.052 Thou also, which hast judged thy sisters, bear thine own shame for thy sins that thou hast committed more abominable than they: they are more righteous than thou: yea, be thou confounded also, and bear thy shame, in that thou hast justified thy sisters. %%% Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweesezza baganda bo obutuukirivu. 26EZE016.053 When I shall bring again their captivity, the captivity of Sodom and her daughters, and the captivity of Samaria and her daughters, then will I bring again the captivity of thy captives in the midst of them: %%% Era ndikomyawo obusibe bwabwe, obusibe bwa Sodomu ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bw'abasibe bo abali wakati mu bo: 26EZE016.054 That thou mayest bear thine own shame, and mayest be confounded in all that thou hast done, in that thou art a comfort unto them. %%% olyoke obeereko ensonyi zo ggwe, era okwatibwe ensonyi olw'ebyo byonna bye wakola, kubanga obasanyusa. 26EZE016.055 When thy sisters, Sodom and her daughters, shall return to their former estate, and Samaria and her daughters shall return to their former estate, then thou and thy daughters shall return to your former estate. %%% Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, ne Samaliya ne bawala be balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda. 26EZE016.056 For thy sister Sodom was not mentioned by thy mouth in the day of thy pride, %%% Kubanga muganda wo Sodomu akamwa ko tekamwatulanga ku lunaku olw'amalala go; 26EZE016.057 Before thy wickedness was discovered, as at the time of thy reproach of the daughters of Syria, and all that are round about her, the daughters of the Philistines, which despise thee round about. %%% obubi bwo nga tebunnabikkulwa, nga mu biro abawala ab'e Busuuli lwe baavuma n'abo bonna abamwetoolodde, abawala aba Bafirisuuti abakugirira ekyejo enjuyi zonna. 26EZE016.058 Thou hast borne thy lewdness and thine abominations, saith the LORD. %%% Wabaako obukaba bwo n'emizizo gyo, bw'ayogera Mukama. 26EZE016.059 For thus saith the Lord GOD; I will even deal with thee as thou hast done, which hast despised the oath in breaking the covenant. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikukolera ddala nga bw'okoze, ggwe eyanyooma ekirayiro n'omenya endagaano. 26EZE016.060 Nevertheless I will remember my covenant with thee in the days of thy youth, and I will establish unto thee an everlasting covenant. %%% Era naye nze ndijjukira endagaano gye nnalagaana naawe mu nnaku ez'obuto bwo, era ndinyweza eri ggwe endagaano eteriggwaawo. 26EZE016.061 Then thou shalt remember thy ways, and be ashamed, when thou shalt receive thy sisters, thine elder and thy younger: and I will give them unto thee for daughters, but not by thy covenant. %%% Kale n'olyoka ojjukira amakubo go, n'okwatibwa ensonyi, bw'oliweebwa baganda bo, baganda bo abakulu ne baganda bo abato: era ndikubawa okuba abawala, naye si lwa ndagaano yo. 26EZE016.062 And I will establish my covenant with thee; and thou shalt know that I am the LORD: %%% Era ndinyweza endagaano yange naawe; kale olimanya nga nze Mukama: 26EZE016.063 That thou mayest remember, and be confounded, and never open thy mouth any more because of thy shame, when I am pacified toward thee for all that thou hast done, saith the Lord GOD. %%% olyoke ojjukire n'oswala n'olema okwasama nate akamwa ko olw'ensonyi zo; bwe ndimala okukusonyiwa byonna bye wakola, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE017.001 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE017.002 Son of man, put forth a riddle, and speak a parable unto the house of Israel; %%% Omwana w'omuntu, leeta ekikokko ogerere ennyumba ya Isiraeri olugero; 26EZE017.003 And say, Thus saith the Lord GOD; A great eagle with great wings, longwinged, full of feathers, which had divers colours, came unto Lebanon, and took the highest branch of the cedar: %%% oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Empungu ennene erina ebiwaawaatiro ebinene n'ebiwaawa ebiwanvu eriko ebyoya bingi, ey'amabala agatali gamu, yajja ku Lebanooni, n'etwala obusongezo bw'omuvule: 26EZE017.004 He cropped off the top of his young twigs, and carried it into a land of traffick; he set it in a city of merchants. %%% yanogako amasanso gaagwo amato agakomererayo, n'eguggyayo n'egutwala mu nsi ey'obusuubuzi; yagusimba mu kibuga eky'abasuubuzi. 26EZE017.005 He took also of the seed of the land, and planted it in a fruitful field; he placed it by great waters, and set it as a willow tree. %%% Era yatwala ne ku nsigo ey'omu nsi, n'egisiga mu ttaka ggimu; yaguteeka awali amazzi amangi n'egusimba ng'omusafusafu. 26EZE017.006 And it grew, and became a spreading vine of low stature, whose branches turned toward him, and the roots thereof were under him: so it became a vine, and brought forth branches, and shot forth sprigs. %%% Ne gumera ne guba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gaagwo ne gagikyukira n'emmizi gyagwo gyali wansi waayo: kale ne guba muzabbibu ne gusuula amatabi, ne gumera amasanso. 26EZE017.007 There was also another great eagle with great wings and many feathers: and, behold, this vine did bend her roots toward him, and shot forth her branches toward him, that he might water it by the furrows of her plantation. %%% Era waaliwo n'empungu ennene endala, eyalina ebiwaawaatiro ebinene n'ebyoya bingi: kale, laba, omuzabbibu ogwo ne gugiwetera emmizi gyagwo, ne gumera amatabi gaagwo okugenda gy'eri, okuva mu bibibi mwe gwasimbibwa, egufukirire amazzi. 26EZE017.008 It was planted in a good soil by great waters, that it might bring forth branches, and that it might bear fruit, that it might be a goodly vine. %%% Gwasimbibwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, gusuule amatabi era gubale ebibala, gubeerenga omuzabbibu omulungi. 26EZE017.009 Say thou, Thus saith the Lord GOD; Shall it prosper? shall he not pull up the roots thereof, and cut off the fruit thereof, that it wither? it shall wither in all the leaves of her spring, even without great power or many people to pluck it up by the roots thereof. %%% Yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Guliraba omukisa? talisimbula mmizi gyagwo, n'asalako ebibala byagwo, guwotoke; amalagala gaagwo gonna amabisi agamera gawotoke; newakubadde nga tewali buyinza bungi newakubadde abantu bangi okugusimbula n'emmizi gyagwo? 26EZE017.010 Yea, behold, being planted, shall it prosper? shall it not utterly wither, when the east wind toucheth it? it shall wither in the furrows where it grew. %%% Weewaawo, laba, bwe gusimbibwa guliraba omukisa? teguliwotokera ddala, embuyaga ez'ebuvanjuba bwe zigukomako? guliwotokera mu bibibi mwe gwakulira. 26EZE017.011 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE017.012 Say now to the rebellious house, Know ye not what these things mean? tell them, Behold, the king of Babylon is come to Jerusalem, and hath taken the king thereof, and the princes thereof, and led them with him to Babylon; %%% Gamba nno ennyumba enjeemu nti Temumanyi bigambo bino amakulu gaabyo bwe gali? babuulire nti Laba, kabaka w'e Babulooni yajja e Yerusaalemi n'awamba kabaka waayo n'abakungu baayo n'abaleeta gy'ali e Babulooni; 26EZE017.013 And hath taken of the king's seed, and made a covenant with him, and hath taken an oath of him: he hath also taken the mighty of the land: %%% era n'atwala ku zzadde lya kabaka, n'alagaana naye endagaano; era n'amulayiza ekirayiro, n'aggyayo ab'amaanyi ab'omu nsi: 26EZE017.014 That the kingdom might be base, that it might not lift itself up, but that by keeping of his covenant it might stand. %%% obwakabaka bukkakkane, buleme okwegulumiza, naye bunywere olw'okukwata endagaano ye. 26EZE017.015 But he rebelled against him in sending his ambassadors into Egypt, that they might give him horses and much people. Shall he prosper? shall he escape that doeth such things? or shall he break the covenant, and be delivered? %%% Naye n'amujeemera ng'atuma ababaka be mu Misiri, bamuwe embalaasi n'abantu bangi. Aliraba omukisa? aliwona oyo akola ebifaanana bwe bityo? alimenya endagaano, era naye n'ewona? 26EZE017.016 As I live, saith the Lord GOD, surely in the place where the king dwelleth that made him king, whose oath he despised, and whose covenant he brake, even with him in the midst of Babylon he shall die. %%% Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima mu kifo kabaka mw'abeera eyamufuula kabaka, gwe yanyoomako ekirayiro kye n'amenya endagaano ye, oyo gy'ali wakati mu Babulooni gy'alifiira. 26EZE017.017 Neither shall Pharaoh with his mighty army and great company make for him in the war, by casting up mounts, and building forts, to cut off many persons: %%% So ne Falaawo n'eggye lye ery'amaanyi n'ekibiina ekinene talibaako ky'amugasa mu ntalo, bwe balituuma ebifunvu ne bazimba ebigo, okuzikiriza abantu bangi. 26EZE017.018 Seeing he despised the oath by breaking the covenant, when, lo, he had given his hand, and hath done all these things, he shall not escape. %%% Kubanga anyoomye ekirayiro ng'amenya endagaano; era, laba, yali awadde omukono gwe, era naye akoze ebyo byonna; taliwona. 26EZE017.019 Therefore thus saith the Lord GOD; As I live, surely mine oath that he hath despised, and my covenant that he hath broken, even it will I recompense upon his own head. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nga bwe ndi omulamu, mazima ekirayiro kyange ky'anyoomye n'endagaano yange gy'amenye ndibituusa n'okubituusa ku mutwe gwe ye. 26EZE017.020 And I will spread my net upon him, and he shall be taken in my snare, and I will bring him to Babylon, and will plead with him there for his trespass that he hath trespassed against me. %%% Era ndimusuulako ekitimba kyange, era ndimutwala e Babulooni, era ndiwoleza naye eyo olw'ekyonoono kye kye yannyonoona. 26EZE017.021 And all his fugitives with all his bands shall fall by the sword, and they that remain shall be scattered toward all winds: and ye shall know that I the LORD have spoken it. %%% Era abadduse be bonna mu bibiina bye byonna baligwa n'ekitala, n'abo abalisigalawo balisaasaanyizibwa eri empewo zonna kale mulimanya nga nze Mukama njogedde. 26EZE017.022 Thus saith the Lord GOD; I will also take of the highest branch of the high cedar, and will set it; I will crop off from the top of his young twigs a tender one, and will plant it upon an high mountain and eminent: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era nditwala ku busongezo obwa waggulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogako ku masanso gaagwo amato agakomererayo essanso erimu eggonvu, era ndirisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu: 26EZE017.023 In the mountain of the height of Israel will I plant it: and it shall bring forth boughs, and bear fruit, and be a goodly cedar: and under it shall dwell all fowl of every wing; in the shadow of the branches thereof shall they dwell. %%% ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri kwe ndirisimba kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi era wansi waagwo wanaabeeranga ennyonyi zonna ez'ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky'amatabi gaagwo we zinaatuulanga. 26EZE017.024 And all the trees of the field shall know that I the LORD have brought down the high tree, have exalted the low tree, have dried up the green tree, and have made the dry tree to flourish: I the LORD have spoken and have done it. %%% N'emiti gyonna egy'omu ttale girimanya nga nze Mukama nkakkanyizza omuti omuwanvu, era nga ngulumizizza omuti omumpi, era nga nkazizza omuti ogwamera, era nga njezezza omuti omukalu: nze Mukama njogedde era nkikoze. 26EZE018.001 The word of the LORD came unto me again, saying, %%% Ekigambo kya Mukama kyanjijira nate nga kyogera nti 26EZE018.002 What mean ye, that ye use this proverb concerning the land of Israel, saying, The fathers have eaten sour grapes, and the children's teeth are set on edge? %%% Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula n'amannyo g'abaana ganyenyeera? 26EZE018.003 As I live, saith the Lord GOD, ye shall not have occasion any more to use this proverb in Israel. %%% Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temuliba na nsonga nate okugera olugero olwo mu Isiraeri. 26EZE018.004 Behold, all souls are mine; as the soul of the father, so also the soul of the son is mine: the soul that sinneth, it shall die. %%% Laba, emmeeme zonna zange; ng'emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana bw'etyo yange: emmeeme ekola ekibi ye erifa. 26EZE018.005 But if a man be just, and do that which is lawful and right, %%% Naye omuntu bw'aba omutuukirivu n'akola ebyalagirwa eby'ensonga, 26EZE018.006 And hath not eaten upon the mountains, neither hath lifted up his eyes to the idols of the house of Israel, neither hath defiled his neighbour's wife, neither hath come near to a menstruous woman, %%% so nga taliiridde ku nsozi, so nga tayimusizza maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, so nga tayonoonye mukazi wa munne, so nga tasemberedde mukazi mu biro eby'okweyawula kwe; 26EZE018.007 And hath not oppressed any, but hath restored to the debtor his pledge, hath spoiled none by violence, hath given his bread to the hungry, and hath covered the naked with a garment; %%% so nga talyazaamaanyizza muntu yenna, naye eyaddizanga omwewoze omusingo gwe, so nga tanyaze muntu yenna lwa maanyi, era eyawanga omuyala emmere ye n'abikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo; 26EZE018.008 He that hath not given forth upon usury, neither hath taken any increase, that hath withdrawn his hand from iniquity, hath executed true judgment between man and man, %%% atawolanga lwa magoba, so nga takkirizanga ebisukkirira byonna, eyaggyako omukono gwe ku butali butuukirivu, eyatuukirizanga omusango ogw'amazima eri omuntu ne munne, 26EZE018.009 Hath walked in my statutes, and hath kept my judgments, to deal truly; he is just, he shall surely live, saith the Lord GOD. %%% eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga emisango gyange, okukolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE018.010 If he beget a son that is a robber, a shedder of blood, and that doeth the like to any one of these things, %%% Bw'alizaala omwana, omunyazi, ayiwa omusaayi, era akola ku ebyo byonna, 26EZE018.011 And that doeth not any of those duties, but even hath eaten upon the mountains, and defiled his neighbour's wife, %%% so atakola ku ebyo byonna ebimugwanidde, naye okulya eyaliira ku nsozi, n'ayonoona mukazi wa munne, 26EZE018.012 Hath oppressed the poor and needy, hath spoiled by violence, hath not restored the pledge, and hath lifted up his eyes to the idols, hath committed abomination, %%% eyalyazaamaanya omwavu n'eyeetaaga, eyanyaga olw'amaanyi, so atazza musingo, era eyayimusa amaaso ge eri ebifaananyi, eyakola eby'emizizo, 26EZE018.013 Hath given forth upon usury, and hath taken increase: shall he then live? he shall not live: he hath done all these abominations; he shall surely die; his blood shall be upon him. %%% eyawolanga olw'amagoba, era eyakkiriza ebisukkirira: kale aliba mulamu ono? taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye. 26EZE018.014 Now, lo, if he beget a son, that seeth all his father's sins which he hath done, and considereth, and doeth not such like, %%% Laba, bw'alizaala omwana, alaba ebibi byonna ebya kitaawe bye yakola, n'atya n'atakola ebifaanana bwe bityo, 26EZE018.015 That hath not eaten upon the mountains, neither hath lifted up his eyes to the idols of the house of Israel, hath not defiled his neighbour's wife, %%% ataliiranga ku nsozi, so atayimusanga maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, atayonoonanga mukazi wa munne, 26EZE018.016 Neither hath oppressed any, hath not withholden the pledge, neither hath spoiled by violence, but hath given his bread to the hungry, and hath covered the naked with a garment, %%% so atalyazaamaanyanga muntu yenna, atasingirwanga kintu, so atanyaganga lwa maanyi, naye eyawanga omuyala emmere ye, eyabikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo, 26EZE018.017 That hath taken off his hand from the poor, that hath not received usury nor increase, hath executed my judgments, hath walked in my statutes; he shall not die for the iniquity of his father, he shall surely live. %%% eyaggyako omukono gwe eri omwavu, atakkirizanga magoba newakubadde ebisukkirira, eyatuukirizanga emisango gyange, eyatambuliranga mu mateeka gange; oyo talifa lwa butali butuukirivu bwa kitaawe, talirema kuba mulamu. 26EZE018.018 As for his father, because he cruelly oppressed, spoiled his brother by violence, and did that which is not good among his people, lo, even he shall die in his iniquity. %%% Kitaawe, kubanga yajooga n'obukambwe, n'anyaga muganda we olw'amaanyi, n'akola ebyo ebitali birungi mu bantu be, laba, alifiira mu butali butuukirivu bwe. 26EZE018.019 Yet say ye, Why? doth not the son bear the iniquity of the father? When the son hath done that which is lawful and right, and hath kept all my statutes, and hath done them, he shall surely live. %%% Era naye mwogera nti Omwana kiki ekimulobera okubaako obutali butuukirivu bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa eby'ensonga, era ng'akutte amateeka gange gonna, era ng'agakoze, talirema kuba mulamu. 26EZE018.020 The soul that sinneth, it shall die. The son shall not bear the iniquity of the father, neither shall the father bear the iniquity of the son: the righteousness of the righteous shall be upon him, and the wickedness of the wicked shall be upon him. %%% Emmeeme eyonoona ye erifa: omwana talibaako butali butuukirivu bwa kitaawe, so ne kitaawe talibaako butali butuukirivu bwa mwana we; obutuukirivu obw'omutuukirivu buliba ku ye, n'obubi obw'omubi buliba ku ye. 26EZE018.021 But if the wicked will turn from all his sins that he hath committed, and keep all my statutes, and do that which is lawful and right, he shall surely live, he shall not die. %%% Naye omubi bw'akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebyalagirwa eby'ensonga, talirema kuba mulamu, talifa. 26EZE018.022 All his transgressions that he hath committed, they shall not be mentioned unto him: in his righteousness that he hath done he shall live. %%% Tewaliba ku byonoono bye bye yayonoona ebirijjukirwa ku ye: alibeera omulamu mu butuukirivu bwe bwe yakola. 26EZE018.023 Have I any pleasure at all that the wicked should die? saith the Lord GOD: and not that he should return from his ways, and live? %%% Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi? bw'ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu? 26EZE018.024 But when the righteous turneth away from his righteousness, and committeth iniquity, and doeth according to all the abominations that the wicked man doeth, shall he live? All his righteousness that he hath done shall not be mentioned: in his trespass that he hath trespassed, and in his sin that he hath sinned, in them shall he die. %%% Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'akola ng'emizizo gyonna bwe giri omuntu omubi gy'akola, aliba mulamu? Tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonye ne mu kibi kye ky'akoze, mu ebyo mw'alifiira. 26EZE018.025 Yet ye say, The way of the LORD is not equal. Hear now, O house of Israel; Is not my way equal? are not your ways unequal? %%% Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Muwulire nno, ai ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana? 26EZE018.026 When a righteous man turneth away from his righteousness, and committeth iniquity, and dieth in them; for his iniquity that he hath done shall he die. %%% Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akoze mw'alifiira. 26EZE018.027 Again, when the wicked man turneth away from his wickedness that he hath committed, and doeth that which is lawful and right, he shall save his soul alive. %%% Nate omuntu omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe bw'akoze n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliwonya emmeeme ye okufa. 26EZE018.028 Because he considereth, and turneth away from all his transgressions that he hath committed, he shall surely live, he shall not die. %%% Kubanga alowooza n'akyuka okuleka ebyonoono bye byonna by'akoze, talirema kuba mulamu, talifa. 26EZE018.029 Yet saith the house of Israel, The way of the LORD is not equal. O house of Israel, are not my ways equal? are not your ways unequal? %%% Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana? 26EZE018.030 Therefore I will judge you, O house of Israel, every one according to his ways, saith the Lord GOD. Repent, and turn yourselves from all your transgressions; so iniquity shall not be your ruin. %%% Kyendiva mbasalira omusango, ai ennyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukomeewo, mukyuke okuleka ebyonoono byammwe byonna; kale obutali butuukirivu buleme okubazikiriza. 26EZE018.031 Cast away from you all your transgressions, whereby ye have transgressed; and make you a new heart and a new spirit: for why will ye die, O house of Israel? %%% Musuule wala nammwe ebyonoono byammwe byonna bye mwonoonye; mwekolere omutima omuggya n'omwoyo omuggya: kubanga kiki ekibaagaza okufa, ai ennyumba ya Isiraeri? 26EZE018.032 For I have no pleasure in the death of him that dieth, saith the Lord GOD: wherefore turn yourselves, and live ye. %%% Kubanga sirina ssanyu lyakusanyukira lwa kufa kw'oyo afa, bw'ayogera Mukama Katonda: kale mwekyuse muleme okufa 26EZE019.001 Moreover take thou up a lamentation for the princes of Israel, %%% Era nate tanula okukungubagira abakungu ba Isiraeri, 26EZE019.002 And say, What is thy mother? A lioness: she lay down among lions, she nourished her whelps among young lions. %%% oyogere nti Nnyoko kyali kiki? Mpologoma nkazi: yagalamiranga mu mpologoma, wakati mu mpologoma ento mwe yayonseza abaana baayo. 26EZE019.003 And she brought up one of her whelps: it became a young lion, and it learned to catch the prey; it devoured men. %%% N'akuza emu ku baana baayo; n'eba mpologoma ento: n'eyiga okukwata omuyiggo, n'erya abantu. 26EZE019.004 The nations also heard of him; he was taken in their pit, and they brought him with chains unto the land of Egypt. %%% Era n'amawanga ne gagiwulira; yakwatibwa mu bunnya bwabwe; ne bagireeta n'amalobo mu nsi y'e Misiri. 26EZE019.005 Now when she saw that she had waited, and her hope was lost, then she took another of her whelps, and made him a young lion. %%% Awo enkazi bwe yalaba ng'erindiridde n'essuubi lyayo nga libuze, n'eryoka eddira omwana gwayo omulala, n'egufuula empologoma ento. 26EZE019.006 And he went up and down among the lions, he became a young lion, and learned to catch the prey, and devoured men. %%% N'etambulatambula mu mpologoma, yafuuka empologoma ento: era yayiga okukwata omuyiggo, yalya abantu. 26EZE019.007 And he knew their desolate palaces, and he laid waste their cities; and the land was desolate, and the fulness thereof, by the noise of his roaring. %%% Era yamanya amayumba gaabwe, n'ezisa ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonna ebyalimu olw'eddoboozi ery'okuwuluguma kwayo. 26EZE019.008 Then the nations set against him on every side from the provinces, and spread their net over him: he was taken in their pit. %%% Awo amawanga ne bagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu bunnya bwabwe. 26EZE019.009 And they put him in ward in chains, and brought him to the king of Babylon: they brought him into holds, that his voice should no more be heard upon the mountains of Israel. %%% Ne bagisiba mu jjiririzo n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwala mu bigo, eddoboozi lyayo lireme okuwulirirwa nate ku nsozi za Isiraeri. 26EZE019.010 Thy mother is like a vine in thy blood, planted by the waters: she was fruitful and full of branches by reason of many waters. %%% Nnyoko yali ng'omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbibwa awali amazzi: yali mugimu, yajjula amatabi olw'amazzi amangi. 26EZE019.011 And she had strong rods for the sceptres of them that bare rule, and her stature was exalted among the thick branches, and she appeared in her height with the multitude of her branches. %%% Era yalina emiggo eminywevu okuba emiggo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumizibwa wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'amatabi gaabwe. 26EZE019.012 But she was plucked up in fury, she was cast down to the ground, and the east wind dried up her fruit: her strong rods were broken and withered; the fire consumed them. %%% Naye yasimbulibwa olw'ekiruyi; yasuulibwa wansi, embuyaga ez'ebuvanjuba ne zikaza ebibala bye: emiggo gye eminywevu ne giwogokako ne giwotoka; omuliro ne gugookya. 26EZE019.013 And now she is planted in the wilderness, in a dry and thirsty ground. %%% Awo kaakano asimbiddwa mu ddungu, mu nsi enkalu ey'emiyonta. 26EZE019.014 And fire is gone out of a rod of her branches, which hath devoured her fruit, so that she hath no strong rod to be a sceptre to rule. This is a lamentation, and shall be for a lamentation. %%% Era omuliro guvudde mu miggo egy'amatabi ge, gwokezza ebibala bye, ne kutaba ku ye omuggo munywevu okuba omuggo ogw'obwakabaka ogw'okufuga. Ebyo bya kukungubaga, era biriba bya kukungubaga. 26EZE020.001 And it came to pass in the seventh year, in the fifth month, the tenth day of the month, that certain of the elders of Israel came to enquire of the LORD, and sat before me. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omusanvu mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja okubuuza Mukama ne batuula mu maaso gange. 26EZE020.002 Then came the word of the LORD unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE020.003 Son of man, speak unto the elders of Israel, and say unto them, Thus saith the Lord GOD; Are ye come to enquire of me? As I live, saith the Lord GOD, I will not be enquired of by you. %%% Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Muzze okumbuuza? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe. 26EZE020.004 Wilt thou judge them, son of man, wilt thou judge them? cause them to know the abominations of their fathers: %%% Onoobasalira, omwana w'omuntu, onoobasalira omusango? Bamanyise emizizo gya bajjajjaabwe; 26EZE020.005 And say unto them, Thus saith the Lord GOD; In the day when I chose Israel, and lifted up mine hand unto the seed of the house of Jacob, and made myself known unto them in the land of Egypt, when I lifted up mine hand unto them, saying, I am the LORD your God; %%% obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, bwe nnayimusa omukono gwange eri bo, nga njogera nti Nze Mukama Katonda wammwe; 26EZE020.006 In the day that I lifted up mine hand unto them, to bring them forth of the land of Egypt into a land that I had espied for them, flowing with milk and honey, which is the glory of all lands: %%% ku lunaku olwo nayimusa omukono gwange eri bo okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubayingiza mu nsi gye nnali mbakettedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna: 26EZE020.007 Then said I unto them, Cast ye away every man the abominations of his eyes, and defile not yourselves with the idols of Egypt: I am the LORD your God. %%% ne mbagamba nti Musuule buli muntu emizizo egy'amaaso ge, so temweyonoonyesanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; Me Mukama Katonda wammwe. 26EZE020.008 But they rebelled against me, and would not hearken unto me: they did not every man cast away the abominations of their eyes, neither did they forsake the idols of Egypt: then I said, I will pour out my fury upon them, to accomplish my anger against them in the midst of the land of Egypt. %%% Naye ne banjeemera ne batayagala kumpulira; tebaasuula buli muntu emizizo egy'amaaso gaabwe, so tebaaleka bifaananyi bya Misiri: kale ne njogera okubafukako ekiruyi kyange, okutuukiriza obusungu bwange ku bo wakati mu nsi y'e Misiri. 26EZE020.009 But I wrought for my name's sake, that it should not be polluted before the heathen, among whom they were, in whose sight I made myself known unto them, in bringing them forth out of the land of Egypt. %%% Naye nakola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga, mwe baali, be nneetegereza mu maaso gaabwe gye bali, nga mbaggya mu nsi y'e Misiri. 26EZE020.010 Wherefore I caused them to go forth out of the land of Egypt, and brought them into the wilderness. %%% Awo ne mbatambuza okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu ddungu. 26EZE020.011 And I gave them my statutes, and shewed them my judgments, which if a man do, he shall even live in them. %%% Awo ne mbawa amateeka gange ne mbalaga emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo. 26EZE020.012 Moreover also I gave them my sabbaths, to be a sign between me and them, that they might know that I am the LORD that sanctify them. %%% Era nate ne mbawa ssabbiiti zange, okuba akabonero wakati wange nabo, balyoke bamanye nga nze Mukama abatukuza. 26EZE020.013 But the house of Israel rebelled against me in the wilderness: they walked not in my statutes, and they despised my judgments, which if a man do, he shall even live in them; and my sabbaths they greatly polluted: then I said, I would pour out my fury upon them in the wilderness, to consume them. %%% Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne bagaana emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; ne ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo. 26EZE020.014 But I wrought for my name's sake, that it should not be polluted before the heathen, in whose sight I brought them out. %%% Naye ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe. 26EZE020.015 Yet also I lifted up my hand unto them in the wilderness, that I would not bring them into the land which I had given them, flowing with milk and honey, which is the glory of all lands; %%% Era nate ne mbayimusiza omukono gwange mu ddungu nga sigenda kubaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna; 26EZE020.016 Because they despised my judgments, and walked not in my statutes, but polluted my sabbaths: for their heart went after their idols. %%% kubanga baagaana emisango gyange ne batatambuliranga mu mateeka gange ne boonoonanga ssabbiiti zange: kubanga omutima gwabwe gwagobereranga ebifaananyi byabwe. 26EZE020.017 Nevertheless mine eye spared them from destroying them, neither did I make an end of them in the wilderness. %%% Era naye eriiso lyange ne libasonyiwa okuzikirizibwa, so saabamalirawo ddala mu ddungu. 26EZE020.018 But I said unto their children in the wilderness, Walk ye not in the statutes of your fathers, neither observe their judgments, nor defile yourselves with their idols: %%% Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti Temutambuliranga mu mateeka ga bajjajjammwe so temwekuumanga misango gyabwe so temweyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe: 26EZE020.019 I am the LORD your God; walk in my statutes, and keep my judgments, and do them; %%% nze Mukama Katonda wammwe; mutambulirenga mu mateeka gange, mukwatenga emisango gyange mugikolenga: 26EZE020.020 And hallow my sabbaths; and they shall be a sign between me and you, that ye may know that I am the LORD your God. %%% era mutukuzenga essabbiiti zange; era zinaabanga kabonero wakati wange nammwe, mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe. 26EZE020.021 Notwithstanding the children rebelled against me: they walked not in my statutes, neither kept my judgments to do them, which if a man do, he shall even live in them; they polluted my sabbaths: then I said, I would pour out my fury upon them, to accomplish my anger against them in the wilderness. %%% Naye abaana ne banjeemera; tebaatambuliranga mu mateeka gange so tebaakwatanga misango gyange okugikolanga, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; baayonoonanga ssabbiiti zange; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange okutuukiriza obusungu bwange eri bo mu ddungu. 26EZE020.022 Nevertheless I withdrew mine hand, and wrought for my name's sake, that it should not be polluted in the sight of the heathen, in whose sight I brought them forth. %%% Era naye ne nziza omukono gwange ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe. 26EZE020.023 I lifted up mine hand unto them also in the wilderness, that I would scatter them among the heathen, and disperse them through the countries; %%% Era nate ne mbayimusiza omukono gwange mu ddungu nga ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbatataaganyiza mu nsi nnyingi; 26EZE020.024 Because they had not executed my judgments, but had despised my statutes, and had polluted my sabbaths, and their eyes were after their fathers' idols. %%% kubanga baali tebatuukirizza misango gyange, naye nga bagaanyi amateeka gange, era nga boonoonye essabbiiti zange, n'amaaso gaabwe gaali nga gagoberera ebifaananyi bya bajjajjaabwe. 26EZE020.025 Wherefore I gave them also statutes that were not good, and judgments whereby they should not live; %%% Era nate ne mbawa amateeka agatali malungi, n'emisango gye batagenda kubeereramu balamu; 26EZE020.026 And I polluted them in their own gifts, in that they caused to pass through the fire all that openeth the womb, that I might make them desolate, to the end that they might know that I am the LORD. %%% ne mbagwagwawaza olw'ebirabo byabwe bo, kubanga baayisanga mu muliro bonna abaggulanda, ndyoke mbamaleko byonna, era bamanye nga nze Mukama. 26EZE020.027 Therefore, son of man, speak unto the house of Israel, and say unto them, Thus saith the Lord GOD; Yet in this your fathers have blasphemed me, in that they have committed a trespass against me. %%% Kale, omwana w'omuntu, yogera n’ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumidde, kubanga bansobyako ekyonoono. 26EZE020.028 For when I had brought them into the land, for the which I lifted up mine hand to give it to them, then they saw every high hill, and all the thick trees, and they offered there their sacrifices, and there they presented the provocation of their offering: there also they made their sweet savour, and poured out there their drink offerings. %%% Kubanga bwe nnali mbayingizizza mu nsi gye nnayimusiza omukono gwange okubawa, kale ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti omuziyivu, ne baweeranga eyo ssaddaaka zaabwe, era eyo gye baaleeteranga ekiweebwayo kyabwe ekinnyiiza, era eyo gye baanyookerezanga akaloosa kaabwe, ne bafukanga ebiweebwayo byabwe eby’okunywa. 26EZE020.029 Then I said unto them, What is the high place whereunto ye go? And the name thereof is called Bamah unto this day. %%% Awo ne mbagamba nti Ekifo ekigulumivu gye mugenda amakulu gaakyo ki? Awo erinnya lyakyo ne kituumibwa Bama ne leero. 26EZE020.030 Wherefore say unto the house of Israel, Thus saith the Lord GOD; Are ye polluted after the manner of your fathers? and commit ye whoredom after their abominations? %%% Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mweyonoonyesa ng'engeri bwe yali eya bajjajjammwe? era mwenda okugoberera emizizo gyabwe? 26EZE020.031 For when ye offer your gifts, when ye make your sons to pass through the fire, ye pollute yourselves with all your idols, even unto this day: and shall I be enquired of by you, O house of Israel? As I live, saith the Lord GOD, I will not be enquired of by you. %%% era bwe muwaayo ebirabo byammwe, bwe muyisa batabani bammwe mu muliro, mweyonoonyesa n'ebifaananyi byammwe byonna ne leero? kale naabuuzibwa mmwe, ai ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe: 26EZE020.032 And that which cometh into your mind shall not be at all, that ye say, We will be as the heathen, as the families of the countries, to serve wood and stone. %%% n'ekyo ekiyingira mu mwoyo gwammwe tekiribaawo n'akatono; kubanga mwogera nti Tunaaba ng'amawanga, ng'ebika eby'omu nsi, okuweereza emiti n'amayinja. 26EZE020.033 As I live, saith the Lord GOD, surely with a mighty hand, and with a stretched out arm, and with fury poured out, will I rule over you: %%% Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima ndiba kabaka wammwe n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'ekiruyi ekifukiddwa: 26EZE020.034 And I will bring you out from the people, and will gather you out of the countries wherein ye are scattered, with a mighty hand, and with a stretched out arm, and with fury poured out. %%% era ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogugoloddwa n'ekiruyi ekifukiddwa: 26EZE020.035 And I will bring you into the wilderness of the people, and there will I plead with you face to face. %%% era ndibaleeta mu ddungu ery'amawanga, era ndiwoleza eyo nammwe nga tutunulagana amaaso n'amaaso. 26EZE020.036 Like as I pleaded with your fathers in the wilderness of the land of Egypt, so will I plead with you, saith the Lord GOD. %%% Nga bwe nnawoleza ne bajjajjammwe mu ddungu ery'ensi y'e Misiri, bwe ntyo bwe ndiwoza nammwe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE020.037 And I will cause you to pass under the rod, and I will bring you into the bond of the covenant: %%% Era ndibayisa wansi w'omuggo, era ndibayingiza mu busibe bw'endagaano; 26EZE020.038 And I will purge out from among you the rebels, and them that transgress against me: I will bring them forth out of the country where they sojourn, and they shall not enter into the land of Israel: and ye shall know that I am the LORD. %%% era ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abansobya; ndibaggya mu nsi mwe batuula, naye tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri: kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE020.039 As for you, O house of Israel, thus saith the Lord GOD; Go ye, serve ye every one his idols, and hereafter also, if ye will not hearken unto me: but pollute ye my holy name no more with your gifts, and with your idols. %%% Nammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mugende muweereze buli muntu ebifaananyi bye, era n'oluvannyuma, bwe mutalikkiriza kumpulira: naye erinnya lyange ettukuvu temuliryonoona nate n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe. 26EZE020.040 For in mine holy mountain, in the mountain of the height of Israel, saith the Lord GOD, there shall all the house of Israel, all of them in the land, serve me: there will I accept them, and there will I require your offerings, and the firstfruits of your oblations, with all your holy things. %%% Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, okwo ennyumba yonna eya Isiraeri, bo bonna, kwe balimpeerereza mu nsi; eyo gye ndibakkiririza, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byammwe n'ebibala ebibereberye eby'ebitone byammwe wamu n'ebintu byammwe byonna ebitukuvu. 26EZE020.041 I will accept you with your sweet savour, when I bring you out from the people, and gather you out of the countries wherein ye have been scattered; and I will be sanctified in you before the heathen. %%% Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga. 26EZE020.042 And ye shall know that I am the LORD, when I shall bring you into the land of Israel, into the country for the which I lifted up mine hand to give it to your fathers. %%% Awo mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe. 26EZE020.043 And there shall ye remember your ways, and all your doings, wherein ye have been defiled; and ye shall lothe yourselves in your own sight for all your evils that ye have committed. %%% Awo mulijjuukirira eyo amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe byonna bye mwegwagwawaza nabyo; era mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola. 26EZE020.044 And ye shall know that I am the LORD, when I have wrought with you for my name's sake, not according to your wicked ways, nor according to your corrupt doings, O ye house of Israel, saith the Lord GOD. %%% Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE020.045 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE020.046 Son of man, set thy face toward the south, and drop thy word toward the south, and prophesy against the forest of the south field; %%% Omwana w'omuntu, simba amaaso go obukiika obwa ddyo, otonnyese ekigambo kyo okwolekera obukiika obwa ddyo, olagulire ku kibira eky'ennimiro ey'obukiika obwa ddyo; 26EZE020.047 And say to the forest of the south, Hear the word of the LORD; Thus saith the Lord GOD; Behold, I will kindle a fire in thee, and it shall devour every green tree in thee, and every dry tree: the flaming flame shall not be quenched, and all faces from the south to the north shall be burned therein. %%% ogambe ekibira eky'obukiika obwa ddyo nti Wulira ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuma omuliro mu ggwe ne gwokya buli muti ogwera oguli mu ggwe na buli muti mukalu: ennimi ez'omuliro ezaaka tezirizikizibwa, n'amaaso gonna okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono galiggya nagwo. 26EZE020.048 And all flesh shall see that I the LORD have kindled it: it shall not be quenched. %%% Kale bonna abalina omubiri baliraba nga nze Mukama ngukumye: tegulizikizibwa. 26EZE020.049 Then said I, Ah Lord GOD! they say of me, Doth he not speak parables? %%% Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! banjogerako nti Si mugezi wa ngero? 26EZE021.001 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE021.002 Son of man, set thy face toward Jerusalem, and drop thy word toward the holy places, and prophesy against the land of Israel, %%% Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera e Yerusaalemi, otonnyese ekigambo kyo okwolekera ebifo ebitukuvu, olagulire ku nsi ya Isiraeri; 26EZE021.003 And say to the land of Israel, Thus saith the LORD; Behold, I am against thee, and will draw forth my sword out of his sheath, and will cut off from thee the righteous and the wicked. %%% ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi. 26EZE021.004 Seeing then that I will cut off from thee the righteous and the wicked, therefore shall my sword go forth out of his sheath against all flesh from the south to the north: %%% Kale kubanga ndikumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi, ekitala kyange kyekiriva kifuluma mu kiraato kyakyo okutabaala bonna abalina omubiri, okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono: 26EZE021.005 That all flesh may know that I the LORD have drawn forth my sword out of his sheath: it shall not return any more. %%% kale bonna abalina omubiri balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo; tekiridda nate lwa kubiri. 26EZE021.006 Sigh therefore, thou son of man, with the breaking of thy loins; and with bitterness sigh before their eyes. %%% Kale ssa ebikkowe, ggwe omwana w'omuntu; amabega go nga gakusonjose era ng'oliko obuyinike bw'olissa ebikkowe bw'otyo bo nga balaba. 26EZE021.007 And it shall be, when they say unto thee, Wherefore sighest thou? that thou shalt answer, For the tidings; because it cometh: and every heart shall melt, and all hands shall be feeble, and every spirit shall faint, and all knees shall be weak as water: behold, it cometh, and shall be brought to pass, saith the Lord GOD. %%% Kale olunaatuuka bwe banaakugamba nti Lwaki ggwe okussa ebikkowe? n'oyogera nti Olw'ebigambo ebiwuliddwa, kubanga bijja: na buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi: laba, bijja, era birikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE021.008 Again the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE021.009 Son of man, prophesy, and say, Thus saith the LORD; Say, A sword, a sword is sharpened, and also furbished: %%% Omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Yogera nti Ekitala, ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa: 26EZE021.010 It is sharpened to make a sore slaughter; it is furbished that it may glitter: should we then make mirth? it contemneth the rod of my son, as every tree. %%% kiwagaddwa kitte ekiwendo; kiziguddwa kibe ng'enjota: kale tunaasanyuka? omuggo ogw'omwana we gunyooma buli muti. 26EZE021.011 And he hath given it to be furbished, that it may be handled: this sword is sharpened, and it is furbished, to give it into the hand of the slayer. %%% Era kiweereddwayo okuzigulwa, kiryoke kikwatibwe: ekitala kiwagaddwa, weewaawo, kiziguddwa, okukiwaayo mu mukono gw'omussi. 26EZE021.012 Cry and howl, son of man: for it shall be upon my people, it shall be upon all the princes of Israel: terrors by reason of the sword shall be upon my people: smite therefore upon thy thigh. %%% Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo. 26EZE021.013 Because it is a trial, and what if the sword contemn even the rod? it shall be no more, saith the Lord GOD. %%% Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omuggo nagwo ogugaya bwe guliba nga tegukyaliwo? bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE021.014 Thou therefore, son of man, prophesy, and smite thine hands together, and let the sword be doubled the third time, the sword of the slain: it is the sword of the great men that are slain, which entereth into their privy chambers. %%% Kale ggwe, omwana w'omuntu, lagula okube mu ngalo; ekitala kyongerwe omulundi ogw'okusatu, ekitala eky'abafumitiddwa okufa: kye kitala ky'omukulu, afumitiddwa okufa, ekiyingira mu bisenge byabwe. 26EZE021.015 I have set the point of the sword against all their gates, that their heart may faint, and their ruins be multiplied: ah! it is made bright, it is wrapped up for the slaughter. %%% Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, omutima gwabwe gusaanuuke n'okwesittala kwabwe kwongerwe nnyo: ee! kifuuse ng'enjota, kisongoddwa olw'okutta. 26EZE021.016 Go thee one way or other, either on the right hand, or on the left, whithersoever thy face is set. %%% Weekuŋŋaanye, tambulira ku gwa ddyo; tala, tambulira ku gwa kkono; yonna yonna amaaso go gye goolekera. 26EZE021.017 I will also smite mine hands together, and I will cause my fury to rest: I the LORD have said it. %%% Era ndikuba mu ngalo, ne nzikusa ekiruyi kyange: nze Mukama nkyogedde. 26EZE021.018 The word of the LORD came unto me again, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti 26EZE021.019 Also, thou son of man, appoint thee two ways, that the sword of the king of Babylon may come: both twain shall come forth out of one land: and choose thou a place, choose it at the head of the way to the city. %%% Era, omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babulooni mwe kinaafuluma; ago gombi galiva mu nsi emu: olambe ekifo, okirambire ekkubo eridda mu kibuga we lisibuka. 26EZE021.020 Appoint a way, that the sword may come to Rabbath of the Ammonites, and to Judah in Jerusalem the defenced. %%% Oteekewo ekkubo ekitala mwe kinaafuluma okutuuka e Labba eky'abaana ba Amoni n'okutuuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko enkomera. 26EZE021.021 For the king of Babylon stood at the parting of the way, at the head of the two ways, to use divination: he made his arrows bright, he consulted with images, he looked in the liver. %%% Kubanga kabaka w'e Babulooni yayimirira mu masaŋŋanzira, amakubo gombi we gasibuka; okulagulwa: yazunzazunza obusaale, ne yeebuuza ku baterafi, n'akebera ekibumba. 26EZE021.022 At his right hand was the divination for Jerusalem, to appoint captains, to open the mouth in the slaughter, to lift up the voice with shouting, to appoint battering rams against the gates, to cast a mount, and to build a fort. %%% Mu mukono gwe ogwa ddyo nga mulimu obulaguzi obw'e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okwasamira akamwa okutta, okuyimusa eddoboozi n'okwogerera waggulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo. 26EZE021.023 And it shall be unto them as a false divination in their sight, to them that have sworn oaths: but he will call to remembrance the iniquity, that they may be taken. %%% Era buliba gye bali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye ajjukiza obutali butuukirivu, balyoke bakwatibwe. 26EZE021.024 Therefore thus saith the Lord GOD; Because ye have made your iniquity to be remembered, in that your transgressions are discovered, so that in all your doings your sins do appear; because, I say, that ye are come to remembrance, ye shall be taken with the hand. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mujjukizizza obutali butuukirivu bwammwe, kubanga okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabika mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mujjukiddwa, mulikwatibwa n'omukono. 26EZE021.025 And thou, profane wicked prince of Israel, whose day is come, when iniquity shall have an end, %%% Naawe, ai ggwe omubi afumitiddwa okufa, omukulu wa Isiraeri, ajjiriddwa olunaku lwo, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero; 26EZE021.026 Thus saith the Lord GOD; Remove the diadem, and take off the crown: this shall not be the same: exalt him that is low, and abase him that is high. %%% bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, okkakkanye ebigulumizibwa. 26EZE021.027 I will overturn, overturn, overturn, it: and it shall be no more, until he come whose right it is; and I will give it him. %%% Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n'ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa. 26EZE021.028 And thou, son of man, prophesy and say, Thus saith the Lord GOD concerning the Ammonites, and concerning their reproach; even say thou, The sword, the sword is drawn: for the slaughter it is furbished, to consume because of the glittering: %%% Naawe, omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda eby'abaana ba Amoni n'eby'okuvuma kwabwe; oyogere nti Ekitala, ekitala kisowoddwa, kiziguliddwa ekiwendo, okukiriisa, kibeere ng'enjota: 26EZE021.029 Whiles they see vanity unto thee, whiles they divine a lie unto thee, to bring thee upon the necks of them that are slain, of the wicked, whose day is come, when their iniquity shall have an end. %%% nga bwe baakulabira ebyayanga, nga bwe baakulagula eby'obulimba, okukuteeka ku nsingo z'ababi abafumitiddwa okufa abajjiddwa olunaku lwabwe, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero. 26EZE021.030 Shall I cause it to return into his sheath? I will judge thee in the place where thou wast created, in the land of thy nativity. %%% Kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi mwe wazaalirwa, mwe ndikusalirira omusango. 26EZE021.031 And I will pour out mine indignation upon thee, I will blow against thee in the fire of my wrath, and deliver thee into the hand of brutish men, and skilful to destroy. %%% Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza. 26EZE021.032 Thou shalt be for fuel to the fire; thy blood shall be in the midst of the land; thou shalt be no more remembered: for I the LORD have spoken it. %%% Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliba wakati mu nsi; tolijjukirwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde. 26EZE022.001 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE022.002 Now, thou son of man, wilt thou judge, wilt thou judge the bloody city? yea, thou shalt shew her all her abominations. %%% Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosala omusango ogw'ekibuga eky'omusaayi? kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna. 26EZE022.003 Then say thou, Thus saith the Lord GOD, The city sheddeth blood in the midst of it, that her time may come, and maketh idols against herself to defile herself. %%% Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo so, ekiseera kyakyo kituuke, ekikola ebifaananyi okweyonoona okwegwagwawaza! 26EZE022.004 Thou art become guilty in thy blood that thou hast shed; and hast defiled thyself in thine idols which thou hast made; and thou hast caused thy days to draw near, and art come even unto thy years: therefore have I made thee a reproach unto the heathen, and a mocking to all countries. %%% Ozzizza omusango ogw'omusaayi gwo gw'oyiye, era ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okukudaalira eri ensi zonna. 26EZE022.005 Those that be near, and those that be far from thee, shall mock thee, which art infamous and much vexed. %%% Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, ggwe alina erinnya ery'obugwagwa era ajjudde okusasamala. 26EZE022.006 Behold, the princes of Israel, every one were in thee to their power to shed blood. %%% Laba, abakungu ba Isiraeri, buli muntu ng'obuyinza bwe bwe buli, baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi. 26EZE022.007 In thee have they set light by father and mother: in the midst of thee have they dealt by oppression with the stranger: in thee have they vexed the fatherless and the widow. %%% Mu ggwe mwe baanyoomeranga kitaabwe ne nnyaabwe; wakati mu ggwe mwe baakoleranga omugenyi eby'okujooga: mu ggwe mwe baalyazaamaanyanga atalina kitaawe ne nnamwandu. 26EZE022.008 Thou hast despised mine holy things, and hast profaned my sabbaths. %%% Wanyoomanga ebintu byange ebitukuvu, n'oyonoonanga ssabbiiti zange. 26EZE022.009 In thee are men that carry tales to shed blood: and in thee they eat upon the mountains: in the midst of thee they commit lewdness. %%% Abasajja abawaayiriza baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi: ne mu ggwe mwe baaliiranga ku nsozi: wakati mu ggwe mwe baakoleranga eby'obukaba. 26EZE022.010 In thee have they discovered their fathers' nakedness: in thee have they humbled her that was set apart for pollution. %%% Mu ggwe mwe babikkulidde ku bwereere bwa kitaabwe: mu ggwe mwe bakwatira n'amaanyi omukazi eyali nga si mulongoofu olw'okweyawula kwe. 26EZE022.011 And one hath committed abomination with his neighbour's wife; and another hath lewdly defiled his daughter in law; and another in thee hath humbled his sister, his father's daughter. %%% Era waliwo akoze eky'omuzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obukaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwannyina muwala wa kitaawe. 26EZE022.012 In thee have they taken gifts to shed blood; thou hast taken usury and increase, and thou hast greedily gained of thy neighbours by extortion, and hast forgotten me, saith the Lord GOD. %%% Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba ne bisukkirira, era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba ng'okwatiddwa omululu ng'ojooga, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE022.013 Behold, therefore I have smitten mine hand at thy dishonest gain which thou hast made, and at thy blood which hath been in the midst of thee. %%% Laba nno, amagoba go agatali ga mazima ge wagoba kyennava ngakubira mu ngalo n'omusaayi gwo ogwabanga wakati mu ggwe. 26EZE022.014 Can thine heart endure, or can thine hands be strong, in the days that I shall deal with thee? I the LORD have spoken it, and will do it. %%% Omutima gwo guliyinza okugumiikiriza, oba emikono gyo giriyinza okuba n'amaanyi, mu nnaku mwe nditeeseza ebibyo? nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola. 26EZE022.015 And I will scatter thee among the heathen, and disperse thee in the countries, and will consume thy filthiness out of thee. %%% Era ndikusaasaanyiza mu mawanga, ne nkutaataaganyiza mu nsi nnyingi; era ndikumalamu empitambi yo. 26EZE022.016 And thou shalt take thine inheritance in thyself in the sight of the heathen, and thou shalt know that I am the LORD. %%% Awo oligwagwawazibwa ku bubwo wekka mu maaso g'amawanga; kale olimanya nga nze Mukama. 26EZE022.017 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE022.018 Son of man, the house of Israel is to me become dross: all they are brass, and tin, and iron, and lead, in the midst of the furnace; they are even the dross of silver. %%% Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri efuuse amasengere gye ndi: ne bonna bikomo na masasi na byuma na bbaati wakati mu kikoomi; masengere ga ffeeza. 26EZE022.019 Therefore thus saith the Lord GOD; Because ye are all become dross, behold, therefore I will gather you into the midst of Jerusalem. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse masengere, laba, kyendiva mbakuŋŋnaanya mu Yerusaalemi wakati. 26EZE022.020 As they gather silver, and brass, and iron, and lead, and tin, into the midst of the furnace, to blow the fire upon it, to melt it; so will I gather you in mine anger and in my fury, and I will leave you there, and melt you. %%% Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omuliro okubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa. 26EZE022.021 Yea, I will gather you, and blow upon you in the fire of my wrath, and ye shall be melted in the midst thereof. %%% Weewaawo, ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro ogw'obusungu bwange, nammwe mulisaanuuka wakati mu kyo. 26EZE022.022 As silver is melted in the midst of the furnace, so shall ye be melted in the midst thereof; and ye shall know that I the LORD have poured out my fury upon you. %%% Ng'effeeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, nammwe bwe mulisaanuukira bwe mutyo wakati nu kyo; kale mulimanya nga nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange. 26EZE022.023 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE022.024 Son of man, say unto her, Thou art the land that is not cleansed, nor rained upon in the day of indignation. %%% omwana w'omuntu, kigambe nti ggwe oli nsi eterongoosebwa, so tetonnyebwako nkuba ku lunaku olw'okunyiigirako. 26EZE022.025 There is a conspiracy of her prophets in the midst thereof, like a roaring lion ravening the prey; they have devoured souls; they have taken the treasure and precious things; they have made her many widows in the midst thereof. %%% Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo: alidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde bannamwandu baakyo okuba abangi wakati mu kyo. 26EZE022.026 Her priests have violated my law, and have profaned mine holy things: they have put no difference between the holy and profane, neither have they shewed difference between the unclean and the clean, and have hid their eyes from my sabbaths, and I am profaned among them. %%% Bakabona baakyo bagiridde ekyejo amateeka gange, era bagwagwawazizza ebintu byange ebitukuvu: tebaawuddeemu bitukuvu n’ebitali bitukuvu, so tebayigiriza bantu okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, era bakwese amaaso gaabwe essabbiiti zange, nange nvumisibwa mu bo. 26EZE022.027 Her princes in the midst thereof are like wolves ravening the prey, to shed blood, and to destroy souls, to get dishonest gain. %%% Abakungu baakyo wakati mu kyo bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiggo; okuyiwa omusaayi n'okuzikiriza emmeeme balyoke bafune amagoba agatali ga mazima. 26EZE022.028 And her prophets have daubed them with untempered morter, seeing vanity, and divining lies unto them, saying, Thus saith the Lord GOD, when the LORD hath not spoken. %%% Era bannabbi baakyo babasiigiddeko ebbumba eritasekuddwa bulungi, nga balaba ebyayanga era nga babalagula eby'obulimba, nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Mukama nga so tayogedde. 26EZE022.029 The people of the land have used oppression, and exercised robbery, and have vexed the poor and needy: yea, they have oppressed the stranger wrongfully. %%% Abantu ab'omu nsi bajooze, ne bagoberera okunyaga; weewaawo, beeraliikirizza omwavu n'eyeetaaga, era bajooze nunnaggwanga nga bamulanga bwereere. 26EZE022.030 And I sought for a man among them, that should make up the hedge, and stand in the gap before me for the land, that I should not destroy it: but I found none. %%% Ne nnoonya omusajja mu bo eyandiddaabirizza olukomera n'ayimirira mu kituli ekiwaguddwa mu maaso gange ku lw'ensi, nneme okugizikiriza: naye ne ssiraba n'omu. 26EZE022.031 Therefore have I poured out mine indignation upon them; I have consumed them with the fire of my wrath: their own way have I recompensed upon their heads, saith the Lord GOD. %%% Kyenvudde mbafukako okunyiiga kwange; mbamazeewo n'omuliro ogw'obusungu bwange: ndese ku mutwe gwabwe ekkubo lyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE023.001 The word of the LORD came again unto me, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti 26EZE023.002 Son of man, there were two women, the daughters of one mother: %%% Omwana w'omuntu, waaliwo abakazi babiri, nnyaabwe omu: 26EZE023.003 And they committed whoredoms in Egypt; they committed whoredoms in their youth: there were their breasts pressed, and there they bruised the teats of their virginity. %%% ne bayenda mu Misiri; baayenda mu buto bwabwe: eyo amabeere gaabwe gye gaanyigirizibwa, era eyo gye baabetentera ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja. 26EZE023.004 And the names of them were Aholah the elder, and Aholibah her sister: and they were mine, and they bare sons and daughters. Thus were their names; Samaria is Aholah, and Jerusalem Aholibah. %%% N'amannya gaabwe Okola, omukulu, ne Okoliba, muganda we: ne baba bange ne bazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. N'amannya gaabwe, Samaliya ye Okola, ne Yerusaalemi ye Okoliba. 26EZE023.005 And Aholah played the harlot when she was mine; and she doted on her lovers, on the Assyrians her neighbours, %%% Okola n'ayenda bwe yali owange; n'asuusuuta baganzi be, Abaasuli baliraanwa be, 26EZE023.006 Which were clothed with blue, captains and rulers, all of them desirable young men, horsemen riding upon horses. %%% abaayambalanga kaniki, abakulu n'abaamasaza, bonna balenzi abeegombebwa, abasajja ab'embalaasi abeebagadde embalaasi. 26EZE023.007 Thus she committed her whoredoms with them, with all them that were the chosen men of Assyria, and with all on whom she doted: with all their idols she defiled herself. %%% N'abagabira obwenzi bwe, bonna basajja ab'e Bwasuli abalonde: era buli gwe yasuusuuta, ne yeyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe byonna. 26EZE023.008 Neither left she her whoredoms brought from Egypt: for in her youth they lay with her, and they bruised the breasts of her virginity, and poured their whoredom upon her. %%% So talekangayo bwenzi bwe okuva mu nnaku ez'e Misiri; kubanga mu buto bwe baasula naye, ne babetenta ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja: ne bamufukako obwenzi bwabwe. 26EZE023.009 Wherefore I have delivered her into the hand of her lovers, into the hand of the Assyrians, upon whom she doted. %%% Kyennava mmuwaayo mu mukono gwa baganzi be, mu mukono gw'Abaasuli be yasuusuuta, 26EZE023.010 These discovered her nakedness: they took her sons and her daughters, and slew her with the sword: and she became famous among women; for they had executed judgment upon her. %%% Abo baabikkula ku bwereere bwe: ne batwala abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala; naye ne bamutta n'ekitala: n'afuuka ekigambo eky'obuwemu mu bakazi; kubanga baamukomekkerezaako emisango. 26EZE023.011 And when her sister Aholibah saw this, she was more corrupt in her inordinate love than she, and in her whoredoms more than her sister in her whoredoms. %%% Ne muganda we Okoliba n'alaba ekyo, naye n'amusinga okukyama mu kusuusuuta kwe ne mu bwenzi bwe obwabanga obungi okusinga obwenzi bwa muganda we. 26EZE023.012 She doted upon the Assyrians her neighbours, captains and rulers clothed most gorgeously, horsemen riding upon horses, all of them desirable young men. %%% Yasuusuuta Abaasuli, abaamasaza n'abakulu, baliraanwa be, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, ab'embalaasi abeebagadde embalaasi, bonna balenzi abeegombebwa. 26EZE023.013 Then I saw that she was defiled, that they took both one way, %%% Ne ndaba ng'agwagwawazibwa; bombi baakwata ekkubo limu. 26EZE023.014 And that she increased her whoredoms: for when she saw men pourtrayed upon the wall, the images of the Chaldeans pourtrayed with vermilion, %%% Ye n'ayongera ku bwenzi bwe; kubanga yalaba abasajja abatonebwa ku kisenge, ebifaananyi eby'Abakaludaaya ebyatonebwa n'eggerenge; 26EZE023.015 Girded with girdles upon their loins, exceeding in dyed attire upon their heads, all of them princes to look to, after the manner of the Babylonians of Chaldea, the land of their nativity: %%% nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebiremba ng'ekifaananyi bwe kiri eky'Ababulooni mu Bukaludaaya, ensi mwe baazaalirwa. 26EZE023.016 And as soon as she saw them with her eyes, she doted upon them, and sent messengers unto them into Chaldea. %%% Awo mangu ago nga kyajje abalabe n'abasuusuuta n'abatumira ababaka mu Bukaludaaya. 26EZE023.017 And the Babylonians came to her into the bed of love, and they defiled her with their whoredom, and she was polluted with them, and her mind was alienated from them. %%% Abababulooni ne bajja gy'ali mu kitanda eky'okwagala, ne bamwonoona n'obwenzi bwabwe, ye n'agwagwawazibwa nabo, omwoyo gwe ne gubatamwa. 26EZE023.018 So she discovered her whoredoms, and discovered her nakedness: then my mind was alienated from her, like as my mind was alienated from her sister. %%% Kale bw'atyo n'abikkula ku bwenzi bwe n'abikkula ku bwereere bwe: kale omwoyo gwange ne gumutamwa, ng'omwoyo gwange bwe gwatamwa muganda we. 26EZE023.019 Yet she multiplied her whoredoms, in calling to remembrance the days of her youth, wherein she had played the harlot in the land of Egypt. %%% Era naye n'ayongera ku bwenzi bwe, ng'ajjukira ennaku ez'obuto bwe, mwe yayendera mu nsi ey'e Misiri. 26EZE023.020 For she doted upon their paramours, whose flesh is as the flesh of asses, and whose issue is like the issue of horses. %%% Awo n'asuusuuta baganzi baabwe, omubiri gwabwe ng'ennyama y'endogoyi, n'ebibavaamu biri ng'ebiva mu mbalaasi. 26EZE023.021 Thus thou calledst to remembrance the lewdness of thy youth, in bruising thy teats by the Egyptians for the paps of thy youth. %%% Bw'otyo n'ojjukira obukaba obw'omu buto bwo, ennywanto zo bwe zaabetentebwa Abamisiri olw'amabeere ag'omu buwala bwe. 26EZE023.022 Therefore, O Aholibah, thus saith the Lord GOD; Behold, I will raise up thy lovers against thee, from whom thy mind is alienated, and I will bring them against thee on every side; %%% Kale, ggwe Okoliba, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigolokosa ku ggwe baganzi bo omwoyo gwo be gutamiddwa, ne mbaleeta okukulumba enjuyi zonna: 26EZE023.023 The Babylonians, and all the Chaldeans, Pekod, and Shoa, and Koa, and all the Assyrians with them: all of them desirable young men, captains and rulers, great lords and renowned, all of them riding upon horses. %%% Abababulooni n'Abakaludaaya bonna, Pekodi ne Sowa ne Kowa, n'Abaasuli bonna wamu nabo: abalenzi abeegombebwa, bonna baamasaza n'abakulu, abalangira n'abasajja abaatiikirira, bonna nga beebagadde embalaasi. 26EZE023.024 And they shall come against thee with chariots, wagons, and wheels, and with an assembly of people, which shall set against thee buckler and shield and helmet round about: and I will set judgment before them, and they shall judge thee according to their judgments. %%% Era balikutabaala nga bakutte eby'okulwanyisa, amagaali ne bannamuziga, era nga balina ekibiina eky'amawanga; balyesimba okulwana naawe, nga balina obugabo n'engabo n'enkuffiira enjuyi zonna: era ndibatikkira okusala emisango, ne bakusalira omusango ng'emisango gyabwe bwe giri. 26EZE023.025 And I will set my jealousy against thee, and they shall deal furiously with thee: they shall take away thy nose and thine ears; and thy remnant shall fall by the sword: they shall take thy sons and thy daughters; and thy residue shall be devoured by the fire. %%% Era ndikusimbako obuggya bwange, nabo balikubonereza n'ekiruyi; balikuggyako ennyindo yo n'amatu go; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kirigwa n'ekitala: balitwala abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kiryokebwa omuliro. 26EZE023.026 They shall also strip thee out of thy clothes, and take away thy fair jewels. %%% Era balikwambuza ebyambalo byo; ne bakuggyako eby'obuyonjo byo ebirungi. 26EZE023.027 Thus will I make thy lewdness to cease from thee, and thy whoredom brought from the land of Egypt: so that thou shalt not lift up thine eyes unto them, nor remember Egypt any more. %%% Bwe ntyo bwe ndimazaawo gy'oli obukaba bwo n'obwenzi bwo obwava mu nsi y'e Misiri: n'okuyimusa n'otobayimusiza nate amaaso go newakubadde okujjukira Misiri nate. 26EZE023.028 For thus saith the Lord GOD; Behold, I will deliver thee into the hand of them whom thou hatest, into the hand of them from whom thy mind is alienated: %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuwaayo mu mukono gw'abo b'okyawa, mu mukono gw'abo omwoyo gwo be gutamiddwa: 26EZE023.029 And they shall deal with thee hatefully, and shall take away all thy labour, and shall leave thee naked and bare: and the nakedness of thy whoredoms shall be discovered, both thy lewdness and thy whoredoms. %%% nabo balikukola olw'obukyawe, balikuggyako omulimu gwo gwonna, ne bakuleka ng'oli bwereere nga tobikkiddwako: obwereere obw'obwenzi bwo ne bubikkulibwa, obukaba bwo era n'obwenzi bwo. 26EZE023.030 I will do these things unto thee, because thou hast gone a whoring after the heathen, and because thou art polluted with their idols. %%% Ebyo birikukolebwa, kubanga wayenda okugoberera ab'amawanga era kubanga ogwagwawazibbwa n'ebifaananyi byabwe. 26EZE023.031 Thou hast walked in the way of thy sister; therefore will I give her cup into thine hand. %%% Watambulira mu kkubo lya muganda wo; kyendiva mpa ekikompe kyo mu mukono gwo. 26EZE023.032 Thus saith the Lord GOD; Thou shalt drink of thy sister's cup deep and large: thou shalt be laughed to scorn and had in derision; it containeth much. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olinywa ku kikompe kya muganda wo, ekiwanvu era ekinene: olisekererwa ddala n'oduulirwa: kirimu bingi. 26EZE023.033 Thou shalt be filled with drunkenness and sorrow, with the cup of astonishment and desolation, with the cup of thy sister Samaria. %%% Olijjula obutamiivu n'obuyinike, ekikompe eky'okusamaalirira n'okulekebwawo, ekikompe kya muganda wo Samaliya. 26EZE023.034 Thou shalt even drink it and suck it out, and thou shalt break the sherds thereof, and pluck off thine own breasts: for I have spoken it, saith the Lord GOD. %%% Olikinywa n'okutankira, n'omeketa engyo zaakyo, n'oyuza amabeere go: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE023.035 Therefore thus saith the Lord GOD; Because thou hast forgotten me, and cast me behind thy back, therefore bear thou also thy lewdness and thy whoredoms. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga onneerabidde, n'onsuula ennyuma w'amabega go, kale naawe beerako obukaba bwo n'obwenzi bwo. 26EZE023.036 The LORD said moreover unto me; Son of man, wilt thou judge Aholah and Aholibah? yea, declare unto them their abominations; %%% Era Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, onoosala omusango gwa Okola ne Okoliba? kale babuulire emizizo gyabwe. 26EZE023.037 That they have committed adultery, and blood is in their hands, and with their idols have they committed adultery, and have also caused their sons, whom they bare unto me, to pass for them through the fire, to devour them. %%% Kubanga baayenda, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe, era baayenda ku bifaananyi byabwe; era ne batabani baabwe be banzaalira baabayisiza mu muliro eri byo okuliibwa. 26EZE023.038 Moreover this they have done unto me: they have defiled my sanctuary in the same day, and have profaned my sabbaths. %%% Era nate bankoze kino: boonoonye ekifo kyange ekitukuvu ku lunaku olumu, era boonoonye essabbiiti zange. 26EZE023.039 For when they had slain their children to their idols, then they came the same day into my sanctuary to profane it; and, lo, thus have they done in the midst of mine house. %%% Kubanga bwe baamala okuttira abaana baabwe ebifaananyi byabwe, kale ne bajja ku lunaku olwo mu kifo kyange ekitukuvu okukyonoona; era, laba, bwe batyo bwe bakoze wakati mu nnyumba yange. 26EZE023.040 And furthermore, that ye have sent for men to come from far, unto whom a messenger was sent; and, lo, they came: for whom thou didst wash thyself, paintedst thy eyes, and deckedst thyself with ornaments, %%% Era nate mwatumya abantu abava ewala: abaatumirwa omubaka, kale, laba, ne bajja; n'onaabira abo n'oziga amaaso go ne weeyonja n'eby'obuyonjo; 26EZE023.041 And satest upon a stately bed, and a table prepared before it, whereupon thou hast set mine incense and mine oil. %%% n'otuula ku kitanda eky'ekitiibwa, emmeeza ng'etegekeddwa mu maaso gaakyo, kwe wateeka obubaane bwange n'amafuta gange. 26EZE023.042 And a voice of a multitude being at ease was with her: and with the men of the common sort were brought Sabeans from the wilderness, which put bracelets upon their hands, and beautiful crowns upon their heads. %%% N'eddoboozi ery'ekibiina ekyegolola lyali naye: abatamiivu ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n'abasajja abakopi; ne bateeka ebikomo ku mikono gy'abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe. 26EZE023.043 Then said I unto her that was old in adulteries, Will they now commit whoredoms with her, and she with them? %%% Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye mu bwenzi nti Kaakano banaayenda ku ye, naye nabo. 26EZE023.044 Yet they went in unto her, as they go in unto a woman that playeth the harlot: so went they in unto Aholah and unto Aholibah, the lewd women. %%% Ne bayingira gy'ali, nga bwe bayingira eri omukazi omwenzi: bwe batyo bwe baayingira eri Okola n'eri Okoliba, abakazi abakaba. 26EZE023.045 And the righteous men, they shall judge them after the manner of adulteresses, and after the manner of women that shed blood; because they are adulteresses, and blood is in their hands. %%% N'abatuukirivu, abo be balibasalira omusango ng'abakazi abenzi bwe basalirwa omusango era ng'abakazi abayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; kubanga benzi, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe. 26EZE023.046 For thus saith the Lord GOD; I will bring up a company upon them, and will give them to be removed and spoiled. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibalinnyisiza ekibiina ne mbawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi n'okunyagibwa. 26EZE023.047 And the company shall stone them with stones, and dispatch them with their swords; they shall slay their sons and their daughters, and burn up their houses with fire. %%% Kale ekibiina kiribakuba amayinja, ne babafumita n'ebitala byabwe; balitta abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala ne bookya ennyumba zaabwe omuliro. 26EZE023.048 Thus will I cause lewdness to cease out of the land, that all women may be taught not to do after your lewdness. %%% Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bayigirizibwe obutakola ng'obukaba bwammwe bwe buli. 26EZE023.049 And they shall recompense your lewdness upon you, and ye shall bear the sins of your idols: and ye shall know that I am the Lord GOD. %%% Era balibasasula obukaba bwammwe, nammwe mulibaako ebibi eby'ebifaananyi byammwe: kale mulimanya nga nze Mukama Katonda. 26EZE024.001 Again in the ninth year, in the tenth month, in the tenth day of the month, the word of the LORD came unto me, saying, %%% Nate mu mwaka ogw'omwenda mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE024.002 Son of man, write thee the name of the day, even of this same day: the king of Babylon set himself against Jerusalem this same day. %%% Omwana w'omuntu, weewandiikire erinnya ery'olunaku, ery'olunaku olwa leero: kabaka w'e Babulooni yasemberera Yerusaalemi ku lunaku luno. 26EZE024.003 And utter a parable unto the rebellious house, and say unto them, Thus saith the Lord GOD; Set on a pot, set it on, and also pour water into it: %%% Era ogerere ennyumba enjeemu olugero obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Teekako sseffuliya, giteekeko, era ogifukemu amazzi: 26EZE024.004 Gather the pieces thereof into it, even every good piece, the thigh, and the shoulder; fill it with the choice bones. %%% okuŋŋaanye ebifi byamu obiteekemu, buli kifi ekirungi, ekisambi n'omukono; gijjuze amagumba agasinga obulungi. 26EZE024.005 Take the choice of the flock, and burn also the bones under it, and make it boil well, and let them seethe the bones of it therein. %%% Ddira ku mbuzi esinga obulungi, otuume amagumba wansi waayo: gyeseze bulungi; weewaawo, amagumba gaayo gafumbibwe wakati mu yo. 26EZE024.006 Wherefore thus saith the Lord GOD; Woe to the bloody city, to the pot whose scum is therein, and whose scum is not gone out of it! bring it out piece by piece; let no lot fall upon it. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi, essufuliya omuli obutalagge bwayo, so n'obutalagge bwayo tebugivuddeemu! giggyeemu kitundu kitundu; tegwiriddwako kalulu. 26EZE024.007 For her blood is in the midst of her; she set it upon the top of a rock; she poured it not upon the ground, to cover it with dust; %%% Kubanga omusaayi gwakyo guli wakati mu kyo; kyaguteeka ku lwazi olwereere; tekyagufuka ku ttaka okugubikkako enfuufu; 26EZE024.008 That it might cause fury to come up to take vengeance; I have set her blood upon the top of a rock, that it should not be covered. %%% gulinnyise ekiruyi okuwalana eggwanga, kyenvudde nteeka omusaayi gwakyo ku lwazi olwereere, guleme okubikkibwako. 26EZE024.009 Therefore thus saith the Lord GOD; Woe to the bloody city! I will even make the pile for fire great. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi! era nange nditeekera enkoomi okuba ennene. 26EZE024.010 Heap on wood, kindle the fire, consume the flesh, and spice it well, and let the bones be burned. %%% Tindikira enku nnyingi, oyase omuliro, ofumbire ddala ennyama, okwase amazzi g'ennyama, amagumba gasiriire. 26EZE024.011 Then set it empty upon the coals thereof, that the brass of it may be hot, and may burn, and that the filthiness of it may be molten in it, that the scum of it may be consumed. %%% Olyoke ogiteeke ku manda gaayo nga teriimu kintu, ebugume, n'ekikomo kyayo kiggye, n'empitambi yaayo esaanuuke mu yo, obutalagge bwayo bumalibwewo. 26EZE024.012 She hath wearied herself with lies, and her great scum went not forth out of her: her scum shall be in the fire. %%% Kyekooyezza n'okutegana: era naye obutalagge bwakyo obungi tebukivaamu; obutalagge bwakyo tebuvaamu na muliro. 26EZE024.013 In thy filthiness is lewdness: because I have purged thee, and thou wast not purged, thou shalt not be purged from thy filthiness any more, till I have caused my fury to rest upon thee. %%% Mu mpitambi yo mulimu obukaba: kubanga nakulongoosa so tewalongoosebwa, kyoliva olema okulongoosebwa empitambi yo nate n'akatono okutuusa lwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe. 26EZE024.014 I the LORD have spoken it: it shall come to pass, and I will do it; I will not go back, neither will I spare, neither will I repent; according to thy ways, and according to thy doings, shall they judge thee, saith the Lord GOD. %%% Nze Mukama nkyogedde: kirituuka nange ndikikola; siridda nnyuma so sirisonyiwa so siryejjusa; ng'amakubo go bwe gali era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe balikusalira omusango, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE024.015 Also the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE024.016 Son of man, behold, I take away from thee the desire of thine eyes with a stroke: yet neither shalt thou mourn nor weep, neither shall thy tears run down. %%% Omwana w'omuntu, laba, oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye geegomba: era naye towuubaalanga so tokaabanga maziga so n'amaziga go galemenga okukulukuta 26EZE024.017 Forbear to cry, make no mourning for the dead, bind the tire of thine head upon thee, and put on thy shoes upon thy feet, and cover not thy lips, and eat not the bread of men. %%% Ssa ebikkowe naye kasirise towuubaalira afudde, weesibe ekiremba kyo, onaanike engatto zo mu bigere, so tobikka ku mimwa gyo, so tolyanga ku mmere ey'abantu. 26EZE024.018 So I spake unto the people in the morning: and at even my wife died; and I did in the morning as I was commanded. %%% Awo ne njogera n'abantu enkya; akawungeezi mukazi wange n'afa: ne nkola enkya nga bwe nnalagiddwa. 26EZE024.019 And the people said unto me, Wilt thou not tell us what these things are to us, that thou doest so? %%% Abantu ne baŋŋamba nti Tootubuulire ebigambo bino bwe biri ku ffe, kyova okola bw'otyo? 26EZE024.020 Then I answered them, The word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ne mbagamba nti Ekigambo kya Mukama kyanjijidde nga kyogera nti 26EZE024.021 Speak unto the house of Israel, Thus saith the Lord GOD; Behold, I will profane my sanctuary, the excellency of your strength, the desire of your eyes, and that which your soul pitieth; and your sons and your daughters whom ye have left shall fall by the sword. %%% Gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwammwe, amaaso gammwe kye geegomba, n'ekyo emmeeme yammwe ky'esaasira; kale abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala be mwaleka ennyuma baligwa n'ekitala. 26EZE024.022 And ye shall do as I have done: ye shall not cover your lips, nor eat the bread of men. %%% Nammwe mulikola nga nze bwe nkoze: temulibikka ku mimwa gyammwe so temulirya mmere ya bantu. 26EZE024.023 And your tires shall be upon your heads, and your shoes upon your feet: ye shall not mourn nor weep; but ye shall pine away for your iniquities, and mourn one toward another. %%% N'ebiremba byammwe biriba ku mitwe gyammwe, n'engatto zammwe mu bigere byammwe: temuliwuubaala so temulikaaba; naye muliyongoberera mu butali butuukirivu bwammwe, ne musinda buli muntu ne munne. 26EZE024.024 Thus Ezekiel is unto you a sign: according to all that he hath done shall ye do: and when this cometh, ye shall know that I am the Lord GOD. %%% Bwe kityo Ezeekyeri aliba gye muli akabonero; nga byonna bwe biri by'akoze bwe mutyo bwe mulikola: ekyo bwe kirijja, kale ne mulyoka mutegeera nga nze Mukama Katonda. 26EZE024.025 Also, thou son of man, shall it not be in the day when I take from them their strength, the joy of their glory, the desire of their eyes, and that whereupon they set their minds, their sons and their daughters, %%% Naawe, omwana w'omuntu, ku lunaku lwe ndibaggyako amaanyi gaabwe, essanyu ery'ekitiibwa kyabwe, amaaso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekako omutima gwabwe, abaana baabwe ab'obuenzi n'ab'obuwala, 26EZE024.026 That he that escapeth in that day shall come unto thee, to cause thee to hear it with thine ears? %%% kale ku lunaku olwo tekiriba bwe kityo ng'oyo aliwona alijja gy'oli okukikuwuliza n'amatu go! 26EZE024.027 In that day shall thy mouth be opened to him which is escaped, and thou shalt speak, and be no more dumb: and thou shalt be a sign unto them; and they shall know that I am the LORD. %%% Ku lunaku lwo akamwa ko kalyasamira oyo aliba ng'awonye, n'oyogera so toliba kasiru nate: bwe kityo oliba kabonero gye bali; kale balimanya nga ze Mukama. 26EZE025.001 The word of the LORD came again unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE025.002 Son of man, set thy face against the Ammonites, and prophesy against them; %%% Omwana w'omuntu, simba amaaso okwolekera abaana ba Amoni, obalagulireko: 26EZE025.003 And say unto the Ammonites, Hear the word of the Lord GOD; Thus saith the Lord GOD; Because thou saidst, Aha, against my sanctuary, when it was profaned; and against the land of Israel, when it was desolate; and against the house of Judah, when they went into captivity; %%% ogambe abaana ba Amoni nti Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati bw'ayogera Mukama nti Kubanga wayogera nti Nyeenya, eri awatukuvu wange, bwe wayonooneka; n'eri ensi ya Isiraeri bwe yazisibwa; n'eri ennyumba ya Yuda bwe baagenda mu busibe: 26EZE025.004 Behold, therefore I will deliver thee to the men of the east for a possession, and they shall set their palaces in thee, and make their dwellings in thee: they shall eat thy fruit, and they shall drink thy milk. %%% laba, kyendiva nkuwaayo eri abaana ab'ebuvanjuba okuba obutaka, kale balisiisira ensiisira zaabwe mu ggwe, ne batuula mu ggwe; balirya ebibala byo, era balinywa amata go. 26EZE025.005 And I will make Rabbah a stable for camels, and the Ammonites a couching place for flocks: and ye shall know that I am the LORD. %%% Era ndifuula Labba okuba ng'ekisibo eky'eŋŋamira, n'abaana ba Amoni okuba ng'ekifo embuzi we zigalamira: kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE025.006 For thus saith the Lord GOD; Because thou hast clapped thine hands, and stamped with the feet, and rejoiced in heart with all thy despite against the land of Israel; %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga okubye mu ngalo, n'osamba n'ebigere, n'osanyukira ku nsi ya Isiraeri n'ekyejo kyonna eky'omu mmeeme yo; 26EZE025.007 Behold, therefore I will stretch out mine hand upon thee, and will deliver thee for a spoil to the heathen; and I will cut thee off from the people, and I will cause thee to perish out of the countries: I will destroy thee; and thou shalt know that I am the LORD. %%% laba, kyenvudde nkugololerako omukono gwange, era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga; era ndikuzikiriza mu mawanga, ne nkumalamu mu nsi ezo: ndikufaafaaganya; kale olimanya nga nze Mukama. 26EZE025.008 Thus saith the Lord GOD; Because that Moab and Seir do say, Behold, the house of Judah is like unto all the heathen; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Mowaabu ne Seyiri boogera nti Laba, ennyumba ya Yuda efaanana amawanga gonna; 26EZE025.009 Therefore, behold, I will open the side of Moab from the cities, from his cities which are on his frontiers, the glory of the country, Bethjeshimoth, Baalmeon, and Kiriathaim, %%% laba, kyendiva mbaggulira abaana b'ebuvanjuba oluuyi lwa Mowaabu okuva mu bibuga, okuva mu bibuga bye ebiri ku nsalo ye, ekitiibwa eky'ensi, Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu, 26EZE025.010 Unto the men of the east with the Ammonites, and will give them in possession, that the Ammonites may not be remembered among the nations. %%% okutabaala abaana ba Amoni, era ndibawa okuba obutaka, abaana ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga: 26EZE025.011 And I will execute judgments upon Moab; and they shall know that I am the LORD. %%% era ndituukiriza emisango ku Mowaabu; kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE025.012 Thus saith the Lord GOD; Because that Edom hath dealt against the house of Judah by taking vengeance, and hath greatly offended, and revenged himself upon them; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Edomu akoze bubi ennyumba ya Yuda ng'awalana eggwanga, era ayonoonye nnyo era yeewalanidde eggwanga ku bo; 26EZE025.013 Therefore thus saith the Lord GOD; I will also stretch out mine hand upon Edom, and will cut off man and beast from it; and I will make it desolate from Teman; and they of Dedan shall fall by the sword. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne mmumalamu abantu n'ensolo: era ndigizisa okuva e Temani: okutuuka e Dedani baligwa n'ekitala. 26EZE025.014 And I will lay my vengeance upon Edom by the hand of my people Israel: and they shall do in Edom according to mine anger and according to my fury; and they shall know my vengeance, saith the Lord GOD. %%% Era nditeeka eggwanga lyange ku Edomu n'omukono gw'abantu bange Isiraeri; era balikolera mu Edomu ng'obusungu bwange bwe buli era ng'ekiruyi kyange bwe kiri: kale balimanya okuwalana kwange, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE025.015 Thus saith the Lord GOD; Because the Philistines have dealt by revenge, and have taken vengeance with a despiteful heart, to destroy it for the old hatred; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Abafirisuuti bakoze nga bawalana eggwanga, era bawalanye eggwanga emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugizikiriza n'obulabe obutaggwaawo; 26EZE025.016 Therefore thus saith the Lord GOD; Behold, I will stretch out mine hand upon the Philistines, and I will cut off the Cherethims, and destroy the remnant of the sea coast. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndigololera ku Bafirisuuti omukono gwange, era ndimalawo Abakeresi, ne nzikiriza ekitundu ekifisseewo eky'oku ttale ly'ennyanja. 26EZE025.017 And I will execute great vengeance upon them with furious rebukes; and they shall know that I am the LORD, when I shall lay my vengeance upon them. %%% Era ndiwalana ku bo eggwanga ekkulu nga mbanenya n'ekiruyi: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibateekako eggwanga lyange. 26EZE026.001 And it came to pass in the eleventh year, in the first day of the month, that the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE026.002 Son of man, because that Tyrus hath said against Jerusalem, Aha, she is broken that was the gates of the people: she is turned unto me: I shall be replenished, now she is laid waste: %%% Omwana w'omuntu, kubanga Ttuulo ayogedde ku Yerusaalemi nti Nyeenya! oyo amenyese eyabanga omulyango ogw'amawanga; akyukidde gye ndi: kaakano ye ng'amaze okuzisibwa nze ndigaggawala: 26EZE026.003 Therefore thus saith the Lord GOD; Behold, I am against thee, O Tyrus, and will cause many nations to come up against thee, as the sea causeth his waves to come up. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wo, ggwe Ttuulo, era ndikutabaaza amawanga mangi, ng'ennyanja bw'etabaaza amayengo gaayo. 26EZE026.004 And they shall destroy the walls of Tyrus, and break down her towers: I will also scrape her dust from her, and make her like the top of a rock. %%% Kale balizikiriza babbugwe ba Ttuulo, ne bamenyera ddala ebigo bye: era ndimukolokotako enfuufu ye, ne mmufuula olwazi olwereere. 26EZE026.005 It shall be a place for the spreading of nets in the midst of the sea: for I have spoken it, saith the Lord GOD: and it shall become a spoil to the nations. %%% Anaabanga kifo kya kutegerangako migonjo wakati mu nnyanja: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda: era kinaabanga munyago gwa mawanga. 26EZE026.006 And her daughters which are in the field shall be slain by the sword; and they shall know that I am the LORD. %%% Ne bawala be abali mu ttale balittibwa n'ekitala: kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE026.007 For thus saith the Lord GOD; Behold, I will bring upon Tyrus Nebuchadrezzar king of Babylon, a king of kings, from the north, with horses, and with chariots, and with horsemen, and companies, and much people. %%% Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Ttuulo Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni; kabaka wa bakabaka, okuva obukiika obwa kkono, ng'alina embalaasi n'amagaali n'abeebagadde embalassi nekibiina n'abantu bangi. 26EZE026.008 He shall slay with the sword thy daughters in the field: and he shall make a fort against thee, and cast a mount against thee, and lift up the buckler against thee. %%% Alitta n'ekitala bawala bo abali mu ttale era alikuzimbako ebigo, n'akutuumako ekifunvu, n'akuyimusizaako engabo. 26EZE026.009 And he shall set engines of war against thy walls, and with his axes he shall break down thy towers. %%% Era alisimba ebintu bye ebitomera ku babbugwe bo, era alimenyera ddala ebigo byo n'embazzi ze. 26EZE026.010 By reason of the abundance of his horses their dust shall cover thee: thy walls shall shake at the noise of the horsemen, and of the wheels, and of the chariots, when he shall enter into thy gates, as men enter into a city wherein is made a breach. %%% Embalaasi ze kubanga ziyinze obungi, enfuufu yaazo erikubikkako: babbugwe bo balikankana olw'oluyoogaano lw'abo abeebagala embalaasi ne bannamuziga n'amagaali, bw'aliyingira mu miryango gyo, ng'abantu bwe bayingira mu kibuga ekiwaguddwamu ekituli. 26EZE026.011 With the hoofs of his horses shall he tread down all thy streets: he shall slay thy people by the sword, and thy strong garrisons shall go down to the ground. %%% Alirinnyirira enguudo zo zonna n'ebinuulo by'embalaasi ze: alitta abantu bo n'ekitala, n'empagi ez'amaanyi go zirikka wansi. 26EZE026.012 And they shall make a spoil of thy riches, and make a prey of thy merchandise: and they shall break down thy walls, and destroy thy pleasant houses: and they shall lay thy stones and thy timber and thy dust in the midst of the water. %%% Era balinyaga obugagga bwo, n'eby'obuguzi bwo balibifuula omuyiggo: era balimenyera ddala babbugwe bo, ne bazikiriza ennyumba zo ez'okwesiima: era baligalamiza amayinja go n'emiti gyo n'enfuufu yo wakati mu mazzi. 26EZE026.013 And I will cause the noise of thy songs to cease; and the sound of thy harps shall be no more heard. %%% Era ndikomya eddoboozi ery'ennyimba zo: n'okuvuga kw'ennanga zo tekuliwulirwa nate. 26EZE026.014 And I will make thee like the top of a rock: thou shalt be a place to spread nets upon; thou shalt be built no more: for I the LORD have spoken it, saith the Lord GOD. %%% Era ndikufuula olwazi olwereere: era onoobanga kifo kya kutegerangako migonjo: tolizimbibwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE026.015 Thus saith the Lord GOD to Tyrus; Shall not the isles shake at the sound of thy fall, when the wounded cry, when the slaughter is made in the midst of thee? %%% Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Ttuulo nti Ebizinga tebirikankana olw'okubwatuka olw'okugwa kwo, abaliko ebiwundu bwe balisinda, ng'abattira ekiwendo wakati mu ggwe? 26EZE026.016 Then all the princes of the sea shall come down from their thrones, and lay away their robes, and put off their broidered garments: they shall clothe themselves with trembling; they shall sit upon the ground, and shall tremble at every moment, and be astonished at thee. %%% Awo abalangira bonna ab'ennyanja baliva ku ntebe zaabwe, ne bambula ebyambalo byabwe, ne beggyako engoye zaabwe ez'eddalizi: balyambala okukankana; balituula ku ttaka nga bakankana buli kaseera ne bakusamaaliririra. 26EZE026.017 And they shall take up a lamentation for thee, and say to thee, How art thou destroyed, that wast inhabited of seafaring men, the renowned city, which wast strong in the sea, she and her inhabitants, which cause their terror to be on all that haunt it! %%% Era balitanula okukukungubagira ne bakugamba nti Ng'ozikiridde, ggwe eyatuulwangamu abalunnyanja, ekibuga ekyayatiikirira, ekyalina amaanyi ku nnyanja, kyo n'abo abakituulamu, abaagwisaako entiisa yaabwe ku abo bonna abaagitambulirangamu! 26EZE026.018 Now shall the isles tremble in the day of thy fall; yea, the isles that are in the sea shall be troubled at thy departure. %%% Kaakano ebizinga birikankana ku lunaku olw'okugwa kwo: weewaawo, ebizinga ebiri mu nnyanja birikeŋŋentererwa olw'okugenda kwo. 26EZE026.019 For thus saith the Lord GOD; When I shall make thee a desolate city, like the cities that are not inhabited; when I shall bring up the deep upon thee, and great waters shall cover thee; %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwawo, ng'ebibuga ebitatuulwamu; bwe ndikulinnyisaako ennyanja, amazzi amangi ne gakubikkako; 26EZE026.020 When I shall bring thee down with them that descend into the pit, with the people of old time, and shall set thee in the low parts of the earth, in places desolate of old, with them that go down to the pit, that thou be not inhabited; and I shall set glory in the land of the living; %%% kale ndikukkakkanya wamu n'abo abakka mu bunnya, eri abantu ab'omu biro eby'edda, era ndikutuuza mu njuyi z'ensi eza wansi, mu bifo ebyalekebwawo obw'edda, wamu n'abo abakka mu bunnya, olemenga okutuulwamu; era nditeeka ekitiibwa mu nsi ey'abalamu: 26EZE026.021 I will make thee a terror, and thou shalt be no more: though thou be sought for, yet shalt thou never be found again, saith the Lord GOD. %%% ndikufuula entiisa, so tolibaawo nate: newakubadde nga bakunoonya, naye tebaakulabenga nate ennaku zonna, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE027.001 The word of the LORD came again unto me, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti 26EZE027.002 Now, thou son of man, take up a lamentation for Tyrus; %%% Naawe, omwana w'omuntu, tanula okukungubagira Ttuulo: 26EZE027.003 And say unto Tyrus, O thou that art situate at the entry of the sea, which art a merchant of the people for many isles, Thus saith the Lord GOD; O Tyrus, thou hast said, I am of perfect beauty. %%% ogambe Ttuulo nti Ai ggwe atuula awayingirirwa mu nayanja, omusuubuzi ow'amawanga eri ebizinga bingi, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggwe, ai Ttuulo oyogedde nti Nze natuukirira mu bulungi. 26EZE027.004 Thy borders are in the midst of the seas, thy builders have perfected thy beauty. %%% Ensalo zo ziri mu mutima gw'ennyanja, abazimbi bo batuukirizza obulungi bwo. 26EZE027.005 They have made all thy ship boards of fir trees of Senir: they have taken cedars from Lebanon to make masts for thee. %%% Embaawo zo zonna baaziggya mu miberozi egiva ku Seniri: baggye emivule ku Lebanooni okukukolera omulongooti. 26EZE027.006 Of the oaks of Bashan have they made thine oars; the company of the Ashurites have made thy benches of ivory, brought out of the isles of Chittim. %%% Enkasi zo bazikoze mu myera egya Basani: emmanga zo bazikozezza masanga agawaayirwa mu nzo ezaava ku bizinga bya Kittimu. 26EZE027.007 Fine linen with broidered work from Egypt was that which thou spreadest forth to be thy sail; blue and purple from the isles of Elishah was that which covered thee. %%% Ettanga lyo lyali lya bafuta eriko omulimu ogw'eddalizi ogwava e Misiri, libeere gy'oli ebendera: engoye eza kaniki n'ez'effulungu ezaava ku bizinga bya Erisa ze zaali ettandaluwa yo. 26EZE027.008 The inhabitants of Zidon and Arvad were thy mariners: thy wise men, O Tyrus, that were in thee, were thy pilots. %%% Abatuula mu Sidoni ne Aluvadi be baali abavuzi bo: abagezigezi bo baali mu ggwe, ai Ttuulo, be baali abagoba bo. 26EZE027.009 The ancients of Gebal and the wise men thereof were in thee thy calkers: all the ships of the sea with their mariners were in thee to occupy thy merchandise. %%% Abakadde ba Gebali n'abagezigezi baayo baali mu ggwe, nga be bakonzi bo: ebyombo byonna eby'oku nnyanja n'abalunnyanja baabyo baabanga mu ggwe okuwamba eby'obuguzi bwo. 26EZE027.010 They of Persia and of Lud and of Phut were in thine army, thy men of war: they hanged the shield and helmet in thee; they set forth thy comeliness. %%% Obuperusi ne Ludi ne Puti baali mu ggye lyo, abasajja bo abalwanyi: baawanikanga mu ggwe engabo n'enkuffiira: baatenda obulungi bwo. 26EZE027.011 The men of Arvad with thine army were upon thy walls round about, and the Gammadims were in thy towers: they hanged their shields upon thy walls round about; they have made thy beauty perfect. %%% Abasajja ab'e Yaluvadi wamu n'eggye lyo baabanga ku babbugwe bo okwetooloola, n'Abagammada baabanga mu bigo byo: baawanikanga engabo zaabwe ku babbugwe bo okwetooloola: baatuukiriza obulungi bwo. 26EZE027.012 Tarshish was thy merchant by reason of the multitude of all kind of riches; with silver, iron, tin, and lead, they traded in thy fairs. %%% Talusiisi ye yabanga omusuubuzi wo olw'obugagga obw'engeri zonna: baawangayo olw'obuguzi bwo effeeza n'ebyuma n'amabaati n'amasasi. 26EZE027.013 Javan, Tubal, and Meshech, they were thy merchants: they traded the persons of men and vessels of brass in thy market. %%% Yavani, Tubali, ne Meseki, be baali abasuubuzi bo: baawanga emibiri gy'abantu n'ebintu eby'ebikomo olw'obuguzi bwo. 26EZE027.014 They of the house of Togarmah traded in thy fairs with horses and horsemen and mules. %%% Ab'omu nnyumba ya Togaluma baawangayo embalaasi n'embalaasi ez'entalo n'ennyumbu olw'ebintu byo. 26EZE027.015 The men of Dedan were thy merchants; many isles were the merchandise of thine hand: they brought thee for a present horns of ivory and ebony. %%% Abasajja ab'e Dedani be baali abasuubuzi bo: ebizinga bingi ebyali akatale ak'omu mukono gwo: baakuleeteranga okuwaanyisa amasanga n'emitoogo. 26EZE027.016 Syria was thy merchant by reason of the multitude of the wares of thy making: they occupied in thy fairs with emeralds, purple, and broidered work, and fine linen, and coral, and agate. %%% Obusuuli yabanga, musuubuzi wo olw'olufulube lw'emirimu gyo: baawangayo olw'ebintu byo amayinja aga nnawandagala n'olugoye olw'effulungu n'omulimu ogw'eddalizi ne bafuta ennungi ne kolali n'amayinja amatwakaavu, 26EZE027.017 Judah, and the land of Israel, they were thy merchants: they traded in thy market wheat of Minnith, and Pannag, and honey, and oil, and balm. %%% Yuda n'ensi ya Isiraeri baabanga basuubuzi bo: baawangayo olw'obuguzi bwo eŋŋaano ey'e Minnisi n'eby'akaloosa n'omubisi gw'enjuki n'amafuta n'envumbo. 26EZE027.018 Damascus was thy merchant in the multitude of the wares of thy making, for the multitude of all riches; in the wine of Helbon, and white wool. %%% Ddamasiko yabanga musuubuzi wo olw'olufulube olw'emirimu gyo, olw'olufulube lw'obugagga obw'engeri zonna: n'omwenge ogw'e Keruboni n'ebyoya by'endiga ebyeru. 26EZE027.019 Dan also and Javan going to and fro occupied in thy fairs: bright iron, cassia, and calamus, were in thy market. %%% Vedani ne Yavani baawangayo olw'ebintu byo obugoogwa: ekyuma ekimasamasa ne kasiya ne kalamo byabanga mu buguzi bwo. 26EZE027.020 Dedan was thy merchant in precious clothes for chariots. %%% Dedani yabanga musuubuzi wo olw'engoye ez'omuwendo omungi ez'okwebagalirako. 26EZE027.021 Arabia, and all the princes of Kedar, they occupied with thee in lambs, and rams, and goats: in these were they thy merchants. %%% Obuwalabu n’abalangira bonna ab'e Kedali abo baabanga basuubuzi ba mu mukono gwo: baabanga basuubuzi bo olw'abaana b'endiga n'endiga ennume n'embuzi. 26EZE027.022 The merchants of Sheba and Raamah, they were thy merchants: they occupied in thy fairs with chief of all spices, and with all precious stones, and gold. %%% Abasuubuzi ab'e Seeba ne Laama baabanga basuubuzi bo: baawangayo olw'ebintu byo eby'akaloosa ebisinga byonna n'amayinja gonna ag'omuwendo omungi n'ezaabu. 26EZE027.023 Haran, and Canneh, and Eden, the merchants of Sheba, Asshur, and Chilmad, were thy merchants. %%% Kalani, ne Kanne ne Edeni n'abasuubuzi ab'e Seeba ne Asuli, ne Kirunaadi baabanga basuubuzi bo. 26EZE027.024 These were thy merchants in all sorts of things, in blue clothes, and broidered work, and in chests of rich apparel, bound with cords, and made of cedar, among thy merchandise. %%% Abo be baabanga abasuubuzi bo olw'ebintu ebironde, olw'emitumba gya kaniki n'emirimu egy'eddalizi, n’essanduuko ez'ebyambalo ezineekaneeka, ezisibibwa n'emigwa ezikolebwa emivule, mu by'obuguzi bwo. 26EZE027.025 The ships of Tarshish did sing of thee in thy market: and thou wast replenished, and made very glorious in the midst of the seas. %%% Ebyombo eby'e Talusiisi bye byakutambuliranga olw'obuguzi bwo: era wagaggawala n'oba wa kitiibwa kinene mu mutima gw'ennyanja. 26EZE027.026 Thy rowers have brought thee into great waters: the east wind hath broken thee in the midst of the seas. %%% Abavuzi bo baakuuusiza awali amazzi amangi: omuyaga ogw'ebuvanjuba gukumenye mu mutima gw'ennyanja. 26EZE027.027 Thy riches, and thy fairs, thy merchandise, thy mariners, and thy pilots, thy calkers, and the occupiers of thy merchandise, and all thy men of war, that are in thee, and in all thy company which is in the midst of thee, shall fall into the midst of the seas in the day of thy ruin. %%% Obugagga bwo n'ebintu byo, obuguzi bwo, abalunnyanja bo, n'abagoba bo, abakozi bo n'abawamba obuguzi bwo, n'abasajja bo bonna abalwanyi abaali mu ggwe, wamu n'ekibiina kyo kyonna ekiri mu ggwe wakati, baligwa mu mutima gw'ennyanja ku lunaku olw'okugwa kwo. 26EZE027.028 The suburbs shall shake at the sound of the cry of thy pilots. %%% Olw'eddoboozi ery'okuleekaana kw'abagoba bo, ebyalo ebiriraanyeewo birikankana. 26EZE027.029 And all that handle the oar, the mariners, and all the pilots of the sea, shall come down from their ships, they shall stand upon the land; %%% N'abo bonna abakwata enkasi, abalunnyanja n'abagoba bonna ab'oku nnyanja baliva mu byombo byabwe, baliyimirira ku lukalu, 26EZE027.030 And shall cause their voice to be heard against thee, and shall cry bitterly, and shall cast up dust upon their heads, they shall wallow themselves in the ashes: %%% era baliwuliza eddoboozi lyabwe, nga bakukaabira, era balirira nga baliko obuyinike, ne basuula enfuufu ku mitwe gyabwe, era balyekulukuunya mu vvu: 26EZE027.031 And they shall make themselves utterly bald for thee, and gird them with sackcloth, and they shall weep for thee with bitterness of heart and bitter wailing. %%% era balikumwera ne beesiba ebibukutu, era balikukaabira amaziga emmeeme zaabwe nga ziriko obuyinike, nga bawuubaala nnyo nnyini. 26EZE027.032 And in their wailing they shall take up a lamentation for thee, and lament over thee, saying, What city is like Tyrus, like the destroyed in the midst of the sea? %%% Awo nga bakuba ebiwoobe balitanula okukukungubagira ne bakukungubagira nga boogera nti Ani afaanana Ttuulo, afaanana oyo asirisibwa wakati mu nnyanja? 26EZE027.033 When thy wares went forth out of the seas, thou filledst many people; thou didst enrich the kings of the earth with the multitude of thy riches and of thy merchandise. %%% Ebintu byo bwe byavanga ku nnyanja, wajjuzanga amawanga mangi: wagaggawaza bakabaka b'ensi n’olufulube lw'obugagga bwo n'olw'obuguzi bwo. 26EZE027.034 In the time when thou shalt be broken by the seas in the depths of the waters thy merchandise and all thy company in the midst of thee shall fall. %%% Mu biro ennyanja bwe yakumenya mu buziba obw'amazzi, obuguzi bwo n'ekibiina kyo kyonna ne bigwa wakati mu ggwe. 26EZE027.035 All the inhabitants of the isles shall be astonished at thee, and their kings shall be sore afraid, they shall be troubled in their countenance. %%% Abo bonna abali ku bizinga bakusamaaliriridde, ne bakabaka baabwe batidde nnyo nnyini, amaaso gaabwe geeraliikiridde. 26EZE027.036 The merchants among the people shall hiss at thee; thou shalt be a terror, and never shalt be any more. %%% Abasuubuzi ab'omu mawanga bakusooza; ofuuse entiisa, so toobengawo nate ennaku zonna. 26EZE028.001 The word of the LORD came again unto me, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kinjiiira nate nga kyogera nti 26EZE028.002 Son of man, say unto the prince of Tyrus, Thus saith the Lord GOD; Because thine heart is lifted up, and thou hast said, I am a God, I sit in the seat of God, in the midst of the seas; yet thou art a man, and not God, though thou set thine heart as the heart of God: %%% Omwana w'omuntu, gamba omulangira w’e Ttuulo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga omutima gwo gugulumizibbwa n'oyogera nti Nze katonda, ntudde ku ntebe ya Katonda wakati mu nnyanja: era naye oli muntu buntu so si Katonda, newakubadde nga wasimba omutima gwo ng'omutima gwa Katonda: 26EZE028.003 Behold, thou art wiser than Daniel; there is no secret that they can hide from thee: %%% laba, olina amagezi okusinga Danyeri; tewali kyama kye bayinza okukukweka: 26EZE028.004 With thy wisdom and with thine understanding thou hast gotten thee riches, and hast gotten gold and silver into thy treasures: %%% weefunira obugagga olw'amagezi go n'okutegeera kwo, n'ofuna ezaabu ne ffeeza mu by'obugagga byo: 26EZE028.005 By thy great wisdom and by thy traffick hast thou increased thy riches, and thine heart is lifted up because of thy riches: %%% oyongedde obugagga bwo olw'amagezi go amangi n'olw'okusuubula kwo, n'omutima gwo gugulumizibwa olw'obugagga bwo: 26EZE028.006 Therefore thus saith the Lord GOD; Because thou hast set thine heart as the heart of God; %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga osimbye omutima gwo ng'omutima gwa Katonda; 26EZE028.007 Behold, therefore I will bring strangers upon thee, the terrible of the nations: and they shall draw their swords against the beauty of thy wisdom, and they shall defile thy brightness. %%% laba, kyendiva nkuleetako bannaggwanga, ab'entiisa ab'omu mawanga: kale balisowola ebitala byabwe okulwanyisa obulungi obw'amagezi go, era balyonoona okumasamasa kwo. 26EZE028.008 They shall bring thee down to the pit, and thou shalt die the deaths of them that are slain in the midst of the seas. %%% Balikussa mu bunnya; era olifa ng'abo bwe bafa abattirwa mu mutima gw'ennyanja. 26EZE028.009 Wilt thou yet say before him that slayeth thee, I am God? but thou shalt be a man, and no God, in the hand of him that slayeth thee. %%% Olyeyongera nate okugambira mu maaso g'oyo akutta nti Nze Katonda? naye oli muntu buntu so si Katonda mu mukono gw'oyo akufumita. 26EZE028.010 Thou shalt die the deaths of the uncircumcised by the hand of strangers: for I have spoken it, saith the Lord GOD. %%% Olifa ng'abo bwe bafa abatali bakomole n'omukono gwa bannaggwanga: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE028.011 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE028.012 Son of man, take up a lamentation upon the king of Tyrus, and say unto him, Thus saith the Lord GOD; Thou sealest up the sum, full of wisdom, and perfect in beauty. %%% Omwana w'omuntu, tanula okukungubagira kabaka w'e Ttuulo omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ossa akabonero ku muwendo, ng'ojjudde amagezi, ng'otuukiridde obulungi. 26EZE028.013 Thou hast been in Eden the garden of God; every precious stone was thy covering, the sardius, topaz, and the diamond, the beryl, the onyx, and the jasper, the sapphire, the emerald, and the carbuncle, and gold: the workmanship of thy tabrets and of thy pipes was prepared in thee in the day that thou wast created. %%% Wali mu Adeni olusuku lwa Katonda; buli jjinja ery'omuwendo omungi lyabanga lya kukubikkako, sadio, topazi, ne alimasi, berulo, sokamu, ne yasepi, safiro, ejjinja erya nnawandagala, ne kabunkulo, ne zaabu: emirimu egy'ebitaasa byo n'egy'endere zo gyali mu ggwe; gyategekebwa ku lunaku kwe watonderwa. 26EZE028.014 Thou art the anointed cherub that covereth; and I have set thee so: thou wast upon the holy mountain of God; thou hast walked up and down in the midst of the stones of fire. %%% Wali kerubi eyafukibwako amafuta abikkako: era nze nakusimba n'okubeera n'obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu; watambula eruuyi n'eruuyi wakati mu mayinja ag'omuliro. 26EZE028.015 Thou wast perfect in thy ways from the day that thou wast created, till iniquity was found in thee. %%% Wali ng'otuukiridde mu makubo go okuva ku lunaku kwe watonderwa okutuusa obutali butuukirivu lwe bwalabika mu ggwe. 26EZE028.016 By the multitude of thy merchandise they have filled the midst of thee with violence, and thou hast sinned: therefore I will cast thee as profane out of the mountain of God: and I will destroy thee, O covering cherub, from the midst of the stones of fire. %%% Baakujuzza wakati ekyejo olw'olufulube olw'okusuubula kwo, n'oyonoona: kyenvudde nkusuula nga nkuggya ku lusozi lwa Katonda nga nkulanga obwonoonefu; era nkuzikirizza, ai kerubi abikkako, okuva wakati mu mayinja ag'omuliro. 26EZE028.017 Thine heart was lifted up because of thy beauty, thou hast corrupted thy wisdom by reason of thy brightness: I will cast thee to the ground, I will lay thee before kings, that they may behold thee. %%% Omutima gwo gwagulumizibwa olw'obulungi bwo, wakyamya amagezi go olw'okumasamasa kwo: nkusudde wansi, nkutadde mu maaso ga bakabaka, bakutunuulire. 26EZE028.018 Thou hast defiled thy sanctuaries by the multitude of thine iniquities, by the iniquity of thy traffick; therefore will I bring forth a fire from the midst of thee, it shall devour thee, and I will bring thee to ashes upon the earth in the sight of all them that behold thee. %%% Wayonoona ebifo byo ebitukuvu olw'olufulube olw'obutali butuukirivu bwo mu kusuubula kwo okutali kwa mazima; kyenvudde nziya omuliro wakati mu ggwe, gukwokezza, era nkufudde evvu ku ttaka mu maaso g'abo bonna abakutunuulira. 26EZE028.019 All they that know thee among the people shall be astonished at thee: thou shalt be a terror, and never shalt thou be any more. %%% Abo bonna abakumanyi mu mawanga balikwewuunya: ofuuse entiisa so toobengawo nate ennaku zonna. 26EZE028.020 Again the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE028.021 Son of man, set thy face against Zidon, and prophesy against it, %%% Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Sidoni kiragule, 26EZE028.022 And say, Thus saith the Lord GOD; Behold, I am against thee, O Zidon; and I will be glorified in the midst of thee: and they shall know that I am the LORD, when I shall have executed judgments in her, and shall be sanctified in her. %%% oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nze ndi mulabe wo, ai Sidoni; era ndigulumizibwa wakati mu ggwe: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okutuukiririza mu kyo emisango, ne ntukuzibwa mu kyo 26EZE028.023 For I will send into her pestilence, and blood into her streets; and the wounded shall be judged in the midst of her by the sword upon her on every side; and they shall know that I am the LORD. %%% Kubanga ndiweereza mu kyo kawumpuli n'omusaayi mu nguudo zaakyo; n'abaliko ebiwundu baligwa wakati mu kyo, ekitala nga kikirumba enjuyi zonna; kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE028.024 And there shall be no more a pricking brier unto the house of Israel, nor any grieving thorn of all that are round about them, that despised them; and they shall know that I am the Lord GOD. %%% Kale tewalibaawo nate omweramannyo ogufumita eri ennyumba ya Isiraeri newakubadde eriggwa erinakuwaza ku abo bonna ababeetoolodde, abaabagiriranga ekyejo; kale balimanya nga nze Mukama Katonda. 26EZE028.025 Thus saith the Lord GOD; When I shall have gathered the house of Israel from the people among whom they are scattered, and shall be sanctified in them in the sight of the heathen, then shall they dwell in their land that I have given to my servant Jacob. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndiba nga mmaze okukuŋŋaanya ennyumba ya Isiraeri okubaggya mu mawanga, mwe baasaasaanyizibwa, ne ntukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga, kale balituula mu nsi yaabwe gye nnawa omuddu wange Yakobo. 26EZE028.026 And they shall dwell safely therein, and shall build houses, and plant vineyards; yea, they shall dwell with confidence, when I have executed judgments upon all those that despise them round about them; and they shall know that I am the LORD their God. %%% Era balituula omwo mirembe; weewaawo, balizimba ennyumba ne basimba ensuku ez'emizabbibu, ne batuula mirembe nga tebaliiko kye batya; bwe ndiba nga mmaze okutuukiriza emisango ku abo bonna abaabagirira ekyejo ababeetoolodde; kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe. 26EZE029.001 In the tenth year, in the tenth month, in the twelfth day of the month, the word of the LORD came unto me, saying, %%% Mu mwaka ogw'ekkumi mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ebbiri ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE029.002 Son of man, set thy face against Pharaoh king of Egypt, and prophesy against him, and against all Egypt: %%% Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Falaawo kabaka w’e Misiri omulagulireko ne ku Misiri yonna: 26EZE029.003 Speak, and say, Thus saith the Lord GOD; Behold, I am against thee, Pharaoh king of Egypt, the great dragon that lieth in the midst of his rivers, which hath said, My river is mine own, and I have made it for myself. %%% yogera ogambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w’e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu migga gyagwo, ogwogedde nti Omugga gwange, gwange, era ngwekoledde nzekka. 26EZE029.004 But I will put hooks in thy jaws, and I will cause the fish of thy rivers to stick unto thy scales, and I will bring thee up out of the midst of thy rivers, and all the fish of thy rivers shall stick unto thy scales. %%% Era nditeeka amalobo mu mba zo, n'ebyennyanja eby'omu migga gyo ndibikwataganya n'amagamba go; era ndikulinnyisa okukuggya wakati mu migga gyo, wamu n'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo ebikwatagana n'amagamba go. 26EZE029.005 And I will leave thee thrown into the wilderness, thee and all the fish of thy rivers: thou shalt fall upon the open fields; thou shalt not be brought together, nor gathered: I have given thee for meat to the beasts of the field and to the fowls of the heaven. %%% Era ndikuleka ng'osuuliddwa mu ddungu, ggwe n'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo: oligwa ku ttale ebweru; tolikuŋŋaayizibwa so toliyoolebwa: nkuwaddeyo okuba emmere eri ensolo ez'oku nsi n'eri ennyonyi ez'omu bbanga. 26EZE029.006 And all the inhabitants of Egypt shall know that I am the LORD, because they have been a staff of reed to the house of Israel. %%% Kale bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga baabanga muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isiraeri. 26EZE029.007 When they took hold of thee by thy hand, thou didst break, and rend all their shoulder: and when they leaned upon thee, thou brakest, and madest all their loins to be at a stand. %%% Bwe bakukwata ku mukono, n'omenyeka n'oyasa ebibegabega byabwe byonna: era bwe beesigama ku ggwe, n'omenyeka, n'oyimiriza ebiwato byabwe byonna. 26EZE029.008 Therefore thus saith the Lord GOD; Behold, I will bring a sword upon thee, and cut off man and beast out of thee. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikuleetako ekitala, ne nkumalamu abantu n'ensolo. 26EZE029.009 And the land of Egypt shall be desolate and waste; and they shall know that I am the LORD: because he hath said, The river is mine, and I have made it. %%% N'ensi y'e Misiri eriba matongo era nsiko; kale balimanya nga nze Mukama: kubanga ayogedde nti Omugga gwange, era nze nagukola. 26EZE029.010 Behold, therefore I am against thee, and against thy rivers, and I will make the land of Egypt utterly waste and desolate, from the tower of Syene even unto the border of Ethiopia. %%% Kale, laba, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'emigga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'amatongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka ne ku nsalo ey'e Buwesiyopya. 26EZE029.011 No foot of man shall pass through it, nor foot of beast shall pass through it, neither shall it be inhabited forty years. %%% Tewaliba kigere kya muntu ekiriyitamu so tewaliba kigere kya nsolo ekiriyitamu, so terituulwamu emyaka amakumi ana. 26EZE029.012 And I will make the land of Egypt desolate in the midst of the countries that are desolate, and her cities among the cities that are laid waste shall be desolate forty years: and I will scatter the Egyptians among the nations, and will disperse them through the countries. %%% Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo mu bibuga ebizisibwa biriba matongo emyaka amakumi ana: era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi. 26EZE029.013 Yet thus saith the Lord GOD; At the end of forty years will I gather the Egyptians from the people whither they were scattered: %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Emyaka amakumi ana nga giyiseewo ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga mwe baasaasaanyizibwa: 26EZE029.014 And I will bring again the captivity of Egypt, and will cause them to return into the land of Pathros, into the land of their habitation; and they shall be there a base kingdom. %%% era ndikomyawo obusibe obw'e Misiri, ne mbazza mu nsi ey'e Pasulo, mu nsi mwe baazaalirwa; era baliba eyo obwakabaka obwajeezebwa. 26EZE029.015 It shall be the basest of the kingdoms; neither shall it exalt itself any more above the nations: for I will diminish them, that they shall no more rule over the nations. %%% Bulisinga obwakabaka bwonna okujeezebwa; so tebulyegulumiza nate ku mawanga: era ndibakendeeza, so tebalifuga nate mawanga. 26EZE029.016 And it shall be no more the confidence of the house of Israel, which bringeth their iniquity to remembrance, when they shall look after them: but they shall know that I am the Lord GOD. %%% So tebuliba nate bwesige bwa nnyumba ya Isiraeri, nga bujjukiza obutali butuukirivu, bwe bakebuka okubatunuulira; kale balimanya nga nze Mukama Katonda. 26EZE029.017 And it came to pass in the seven and twentieth year, in the first month, in the first day of the month, the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE029.018 Son of man, Nebuchadrezzar king of Babylon caused his army to serve a great service against Tyrus: every head was made bald, and every shoulder was peeled: yet had he no wages, nor his army, for Tyrus, for the service that he had served against it: %%% Omwana w'omuntu, Nebukadduleeza kabaka we Babulooni yatabaaza eggye lye olutabaalo olunene okulwanyisa Ttuulo: buli mutwe ne gubaako ekiwalaata, na buli kibegabega ne kibambuka: era naye teyalina mpeera, newakubadde eggye lye okuva e Ttuulo, olw'olutabaalo lwe yakitabaala: 26EZE029.019 Therefore thus saith the Lord GOD; Behold, I will give the land of Egypt unto Nebuchadrezzar king of Babylon; and he shall take her multitude, and take her spoil, and take her prey; and it shall be the wages for his army. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni ensi y'e Misiri; era alitwalira ddala olufulube lw'abantu baayo, n'anyaga omunyago gwamu, n'anyaga omuyiggo gwamu; era ye eriba empeera ey'eggye lye. 26EZE029.020 I have given him the land of Egypt for his labour wherewith he served against it, because they wrought for me, saith the Lord GOD. %%% Mmuwadde ensi y'e Misiri okuba empeera ye gye yatabaalira, kubanga baakola omulimu gwange, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE029.021 In that day will I cause the horn of the house of Israel to bud forth, and I will give thee the opening of the mouth in the midst of them; and they shall know that I am the LORD. %%% Ku lunaku olwo ndimereza ejjembe ennyumba ya Isiraeri, era ndikuwa okwasama akamwa wakati mu bo; kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE030.001 The word of the LORD came again unto me, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti 26EZE030.002 Son of man, prophesy and say, Thus saith the Lord GOD; Howl ye, Woe worth the day! %%% Omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Muwowoggane nti Zisanze olunaku! 26EZE030.003 For the day is near, even the day of the LORD is near, a cloudy day; it shall be the time of the heathen. %%% Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama lwe luli okumpi, olunaku olw'ebire; kiriba kiseera kya bannaggwanga. 26EZE030.004 And the sword shall come upon Egypt, and great pain shall be in Ethiopia, when the slain shall fall in Egypt, and they shall take away her multitude, and her foundations shall be broken down. %%% Era ekitala kiririnnya ku Misiri, n'obubalagaze buliba Buwesiyopya, abo abattiddwa bwe baligwa mu Misiri; era baliggyawo olufulube lw'abantu baamu, n'emisingi gyayo girimenyekera ddala. 26EZE030.005 Ethiopia, and Libya, and Lydia, and all the mingled people, and Chub, and the men of the land that is in league, shall fall with them by the sword. %%% Obuwesiyopya, ne Puti, ne Ludi, n'abantu bonna abaatabulwa, ne Kubu, n'abaana bonna ab'ensi eragaanye, baligwa wamu nabo n'ekitala. 26EZE030.006 Thus saith the LORD; They also that uphold Egypt shall fall; and the pride of her power shall come down: from the tower of Syene shall they fall in it by the sword, saith the Lord GOD. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Era n'abo abakwatirira Misiri baligwa, n'amalala ag'obuyinza bwayo galikankana: okuva ku kigo eky'e Sevene baligwa omwo n'ekitala, bw'ayogera Mukama. 26EZE030.007 And they shall be desolate in the midst of the countries that are desolate, and her cities shall be in the midst of the cities that are wasted. %%% Era baliba nga balekeddwawo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo biriba wakati mu bibuga ebyazisibwa. 26EZE030.008 And they shall know that I am the LORD, when I have set a fire in Egypt, and when all her helpers shall be destroyed. %%% Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukuma omuliro mu Misiri, n'ababeezi baayo bonna nga bazikiridde: 26EZE030.009 In that day shall messengers go forth from me in ships to make the careless Ethiopians afraid, and great pain shall come upon them, as in the day of Egypt: for, lo, it cometh. %%% Ku lunaku olwo ababaka balitambula nga bava mu maaso gange nga bagenderera mu byombo okutiisa Abesiyopya abeegolola; kale obubalagaze buliba ku bo, nga ku lunaku lwa Misiri; kubanga, laba, lujja. 26EZE030.010 Thus saith the Lord GOD; I will also make the multitude of Egypt to cease by the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ndikomya olufulube lw'abantu ba Misiri n'omukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni. 26EZE030.011 He and his people with him, the terrible of the nations, shall be brought to destroy the land: and they shall draw their swords against Egypt, and fill the land with the slain. %%% Ye n'abantu be awamu naye, ab'entiisa ab'omu mawanga, baliyingizibwa okuzikiriza ensi; era balisowola ebitala byabwe okulwanyisa Misiri, ne bajjuza ensi abo abattiddwa. 26EZE030.012 And I will make the rivers dry, and sell the land into the hand of the wicked: and I will make the land waste, and all that is therein, by the hand of strangers: I the LORD have spoken it. %%% Era ndikaza emigga, ne ntunda ensi mu mukono gw'abantu ababi; era ndirekesaawo nsi ne byonna ebirimu n'omukono gwa banaaggwanga: nze Mukama nkyogedde. 26EZE030.013 Thus saith the Lord GOD; I will also destroy the idols, and I will cause their images to cease out of Noph; and there shall be no more a prince of the land of Egypt: and I will put a fear in the land of Egypt. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ndizikiriza n'ebifaananyi, era ndimalamu esanamu nu Noofu; so tewaliba nate mulangira ava mu nsi y'e Misiri: era nditeeka entiisa mu nsi y'e Misiri. 26EZE030.014 And I will make Pathros desolate, and will set fire in Zoan, and will execute judgments in No. %%% Era ndirekesaawo Pasulo, ne nkuma omuliro mu Zowani, ne ntuukiriza emisango mu No. 26EZE030.015 And I will pour my fury upon Sin, the strength of Egypt; and I will cut off the multitude of No. %%% Era ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri; era ndimalwo olufulube olw'abantu ba No. 26EZE030.016 And I will set fire in Egypt: Sin shall have great pain, and No shall be rent asunder, and Noph shall have distresses daily. %%% Era ndikuma omuliro mu Misiri; Sini kiriba n'obubalagaze bungi, ne No kirimenyeka: ne Noofu kiriba n’abalabe emisana. 26EZE030.017 The young men of Aven and of Pibeseth shall fall by the sword: and these cities shall go into captivity. %%% Abalenzi ba Aveni n'aba Pibesesi baligwa n'ekiala: n'ebibuga bino birigenda mu busibe. 26EZE030.018 At Tehaphnehes also the day shall be darkened, when I shall break there the yokes of Egypt: and the pomp of her strength shall cease in her: as for her, a cloud shall cover her, and her daughters shall go into captivity. %%% Era e Tekafunekeesi n’omusaaa gulyeggyawo, bwe ndimenyera eyo ebikoligo bya Misiri, n'amalala ag'obuyinza bwayo galigwaawo omwo: nakyo ekire kirikibikkako, ne bawala baakyo baligenda mu busibe. 26EZE030.019 Thus will I execute judgments in Egypt: and they shall know that I am the LORD. %%% Bwe ntyo bwe ndituukiriza emisango mu Misiri: kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE030.020 And it came to pass in the eleventh year, in the first month, in the seventh day of the month, that the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu mu mwezi gw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE030.021 Son of man, I have broken the arm of Pharaoh king of Egypt; and, lo, it shall not be bound up to be healed, to put a roller to bind it, to make it strong to hold the sword. %%% Omwana w'omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo kabaka w'e Miisiri; era, laba, tegusibiddwa okusiigako eddagala, okussaako ekiwero okugusiba, gubeere n'amaanyi okukwata ekitala. 26EZE030.022 Therefore thus saith the Lord GOD; Behold, I am against Pharaoh king of Egypt, and will break his arms, the strong, and that which was broken; and I will cause the sword to fall out of his hand. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti laba, ndi mulabe wa Falaawo kabaka w'e Misiri, era ndimenya emikono gye, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka; era ndigwisa ekitala okuva mu mukono gwe. 26EZE030.023 And I will scatter the Egyptians among the nations, and will disperse them through the countries. %%% Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga, era ndibataataaganyiza mu nsi nnyingi. 26EZE030.024 And I will strengthen the arms of the king of Babylon, and put my sword in his hand: but I will break Pharaoh's arms, and he shall groan before him with the groanings of a deadly wounded man. %%% Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babulooni, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe: naye ndimenya emikono gya Falaawo, kale alisindira mu maaso ge ng'omuntu afumitiddwa okufa bw'asinda. 26EZE030.025 But I will strengthen the arms of the king of Babylon, and the arms of Pharaoh shall fall down; and they shall know that I am the LORD, when I shall put my sword into the hand of the king of Babylon, and he shall stretch it out upon the land of Egypt. %%% Era ndisitula emikono gya kabaka w'e Babulooni, n'emikono gya Falaawo girikka; kale balimanya nga nze Mukama, bwe nditeeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikigololera ku nsi y'e Misiri. 26EZE030.026 And I will scatter the Egyptians among the nations, and disperse them among the countries; and they shall know that I am the LORD. %%% Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi; kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE031.001 And it came to pass in the eleventh year, in the third month, in the first day of the month, that the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu mu mwezi ogw'okusatu ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE031.002 Son of man, speak unto Pharaoh king of Egypt, and to his multitude; Whom art thou like in thy greatness? %%% Omwana w'omuntu, gamba Falaawo kabaka w'e Misiri n'olufulube lw'abantu be nti Ofaanana ani mu bukulu bwo? 26EZE031.003 Behold, the Assyrian was a cedar in Lebanon with fair branches, and with a shadowing shroud, and of an high stature; and his top was among the thick boughs. %%% Laba, Omwasuli yali muvule ku Lebanooni ogw'amatabi amalungi, era ogw'ekisaanikira eky'ekisiikirize, era muwanvu; n'obusongezo bwe bwali mu matabi amaziyivu. 26EZE031.004 The waters made him great, the deep set him up on high with her rivers running round about his plants, and sent out her little rivers unto all the trees of the field. %%% Amazzi gaamuliisanga; ennyanja yamukuza: emigga gye gyakulukuta okwetooloola olusuku lwe; era yatuusa ensalosalo ze eri emiti gyonna egy'omu ttale. 26EZE031.005 Therefore his height was exalted above all the trees of the field, and his boughs were multiplied, and his branches became long because of the multitude of waters, when he shot forth. %%% Obuwanvu bwe kyebwava bugulumizibwa okusinga emiti gyonna egy'omu ttale; n'amatabi ge ne gaala, ensibuka ze n'ezaala, amatabi ge ne gawanvuwa olw'amazzi amangi, bwe yagasuula. 26EZE031.006 All the fowls of heaven made their nests in his boughs, and under his branches did all the beasts of the field bring forth their young, and under his shadow dwelt all great nations. %%% Ennyonyi zonna ez'omu bbanga ne zizimba ebisu byazo mu matabi ge, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ne zizaalira abaana baazo wansi w'amatabi ge, n'amawanga gonna amakulu ne gabeera wansi w'ekisiikirize kye. 26EZE031.007 Thus was he fair in his greatness, in the length of his branches: for his root was by great waters. %%% Bw'atyo n'aba mulungi mu bukulu bwe, olw'okuwanvuwa kw'amatabi ge: kubanga emmizi gye gyali awali amazzi amangi. 26EZE031.008 The cedars in the garden of God could not hide him: the fir trees were not like his boughs, and the chestnut trees were not like his branches; nor any tree in the garden of God was like unto him in his beauty. %%% Emivule egy'omu lusuku lwa Katonda tegyayinza kumukweka: emiberoosi nga tegyenkana matabi ge, n'emyalamooni nga tegifaanana nsibuka ze: so nga tewali muti mu lusuku lwa Katonda ogumwenkana obulungi bwe. 26EZE031.009 I have made him fair by the multitude of his branches: so that all the trees of Eden, that were in the garden of God, envied him. %%% N'amufuula mulungi olw'olufulube lw'amatabi ge: emiti gyonna egy'omu Adeni egyali mu lusuku lwa Katonda n'okukwatibwa ne gimukwatirwa obuggya. 26EZE031.010 Therefore thus saith the Lord GOD; Because thou hast lifted up thyself in height, and he hath shot up his top among the thick boughs, and his heart is lifted up in his height; %%% Mukama Katonda kyeyava ayogera bw'ati nti Kubanga ogulumizibwa obuwanvu, era atadde obusongezo bwe mu matabi amaziyivu, n'omutima gwe gusituliddwa olw'obugulumivu bwe; 26EZE031.011 I have therefore delivered him into the hand of the mighty one of the heathen; he shall surely deal with him: I have driven him out for his wickedness. %%% okuwa ndimuwaayo mu mukono gw'ow'amaanyi ku mawanga; talirema kumubonereza: mmugobye olw'obubi bwe. 26EZE031.012 And strangers, the terrible of the nations, have cut him off, and have left him: upon the mountains and in all the valleys his branches are fallen, and his boughs are broken by all the rivers of the land; and all the people of the earth are gone down from his shadow, and have left him. %%% Era bannaggwanga, ab'entiisa ab'omu mawanga, bamumazeewo, bamuleseewo: amatabi ge gagudde ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n'ensibuka ze zimenyekedde ku nsalosalo zonna ez'omu nsi; n'amawanga ag'omu nsi gasse okuva mu kisiikirize kye, era bamuleseewo. 26EZE031.013 Upon his ruin shall all the fowls of the heaven remain, and all the beasts of the field shall be upon his branches: %%% Ennyonyi zonna ez'omu bbanga zirituula ku bibye ebyagwa, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ziribeera ku matabi ge: 26EZE031.014 To the end that none of all the trees by the waters exalt themselves for their height, neither shoot up their top among the thick boughs, neither their trees stand up in their height, all that drink water: for they are all delivered unto death, to the nether parts of the earth, in the midst of the children of men, with them that go down to the pit. %%% waleme okubaawo ku miti gyonna egiri ku mabbali g'amazzi n'ogumu ogulyegulumiza olw'obuwanvu bwagyo, era gireme okuteeka obusongezo bwagyo mu matabi amaziyivu, n'egyagyo egy'amaanyi gireme okuyimirira mu bugulumivu bwagyo, gyonna eginywa amazzi: kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, eri enjuyi ez'ensi eza wansi, wakati mu baana b'abantu, wamu n'abo abakka mu bunnya. 26EZE031.015 Thus saith the Lord GOD; In the day when he went down to the grave I caused a mourning: I covered the deep for him, and I restrained the floods thereof, and the great waters were stayed: and I caused Lebanon to mourn for him, and all the trees of the field fainted for him. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe yakka mu magombe, naleeta ekiwuubaalo: namubikkira ku nnyanja, ne nziyiza emigga gyayo, n'amazzi amangi ne gayimirizibwa: ne mpuubaaza Lebanooni ku lulwe, emiti gyonna egy'omu ttale ne giyongobera ku lulwe. 26EZE031.016 I made the nations to shake at the sound of his fall, when I cast him down to hell with them that descend into the pit: and all the trees of Eden, the choice and best of Lebanon, all that drink water, shall be comforted in the nether parts of the earth. %%% Nakankanya amawanga olw'eddoboozi ery'okugwa kwe, bwe nnamusuula mu magombe wamu n'abo abakka mu bunnya: emiti gyonna egy'omu Adeni, emironde egya Lebanooni egisinga obulungi, gyonna eginywa amazzi, ne gisanyusibwa mu njuyi ez'ensi eza wansi. 26EZE031.017 They also went down into hell with him unto them that be slain with the sword; and they that were his arm, that dwelt under his shadow in the midst of the heathen. %%% Era nagyo ne gikka mu magombe wamu naye eri abo abattibwa n'ekitala; weewaawo, abo abaabanga omukono gwe, abaatuulanga wansi w'ekisiikirize kye wakati mu mawanga. 26EZE031.018 To whom art thou thus like in glory and in greatness among the trees of Eden? yet shalt thou be brought down with the trees of Eden unto the nether parts of the earth: thou shalt lie in the midst of the uncircumcised with them that be slain by the sword. This is Pharaoh and all his multitude, saith the Lord GOD. %%% Ofaanana ani bw'otyo ekitiibwa n'obukulu mu miti egy'omu Adeni? era naye olissibwa wamu n'emiti egy'omu Adeni mu njuyi ez'ensi eza wansi: oligalamira wakati mu batali bakomole, wamu n'abo abattibwa n'ekitala. Oyo ye Falaawo n'olufulube lw'abantu be bonna, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE032.001 And it came to pass in the twelfth year, in the twelfth month, in the first day of the month, that the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE032.002 Son of man, take up a lamentation for Pharaoh king of Egypt, and say unto him, Thou art like a young lion of the nations, and thou art as a whale in the seas: and thou camest forth with thy rivers, and troubledst the waters with thy feet, and fouledst their rivers. %%% Omwana w'omuntu, tanula okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omugambe nti Wafaananyizibwa empologoma ento ey'omu mawanga: era naye oli ng'ogusota oguli mu nnyanja; n'owaguza wamu n'emigga gyo, n'otabangula amazzi n'ebigere byo, n'oyonoona emigga gyago: 26EZE032.003 Thus saith the Lord GOD; I will therefore spread out my net over thee with a company of many people; and they shall bring thee up in my net. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikusuulako omugonjo gwange n'ekibiina eky'amawanga amangi; era balikuvuba n'omugonjo gwange. 26EZE032.004 Then will I leave thee upon the land, I will cast thee forth upon the open field, and will cause all the fowls of the heaven to remain upon thee, and I will fill the beasts of the whole earth with thee. %%% Era ndikuleka ku lukalu ne nkusuula ku ttale ebweru, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, naawe ndikukkusa ensolo ez'omu nsi zonna bwe zenkana. 26EZE032.005 And I will lay thy flesh upon the mountains, and fill the valleys with thy height. %%% Era nditeeka omubiri gwo ku nsozi ne njijuza ebiwonvu obugulumivu bwo. 26EZE032.006 I will also water with thy blood the land wherein thou swimmest, even to the mountains; and the rivers shall be full of thee. %%% Era ndifukirira ensi gy'owugamu n'omusaayi gwo, okutuuka ne ku nsozi; n'ensalosalo zirikujjula: 26EZE032.007 And when I shall put thee out, I will cover the heaven, and make the stars thereof dark; I will cover the sun with a cloud, and the moon shall not give her light. %%% Awo bwe ndikumalawo, ndibikka ku ggulu ne nfuula emmunyeenye zaamu okubaako ekizikiza; era ndibikka ekire ku njuba, so n'omwezi tegulireeta kwaka kwagwo. 26EZE032.008 All the bright lights of heaven will I make dark over thee, and set darkness upon thy land, saith the Lord GOD. %%% Ettabaaza zonna ez'omu ggulu ezaakaayakana ndizireetako ekizikiza waggulu wo, ne nteeka ekizikiza ku nsi yo, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE032.009 I will also vex the hearts of many people, when I shall bring thy destruction among the nations, into the countries which thou hast not known. %%% Era ndyeraliikiriza emitima gy'amawanga amangi, bwe ndituusa okuzikirira kwo mu mawanga, mu nsi z'otomanyanga. 26EZE032.010 Yea, I will make many people amazed at thee, and their kings shall be horribly afraid for thee, when I shall brandish my sword before them; and they shall tremble at every moment, every man for his own life, in the day of thy fall. %%% Weewaawo, ndikusamaaliririza amawanga mangi, ne bakabaka baabwe balitya nnyo nnyini ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; era balikankana buli kaseera, buli muntu ng'akankanira obulamu bwe ye, ku lunaku olw'okugwa kwo. 26EZE032.011 For thus saith the Lord GOD; The sword of the king of Babylon shall come upon thee. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekitala kya kabaka w'e Babulooni kirituuka ku ggwe. 26EZE032.012 By the swords of the mighty will I cause thy multitude to fall, the terrible of the nations, all of them: and they shall spoil the pomp of Egypt, and all the multitude thereof shall be destroyed. %%% Ndigwisa olufulube lwo n'ebitala eby'ab'amaanyi; bonna ba ntiisa ba mu mawanga: era balinyaga amalala ga Misiri, n'olufulube lwayo lwonna lulizikirizibwa. 26EZE032.013 I will destroy also all the beasts thereof from beside the great waters; neither shall the foot of man trouble them any more, nor the hoofs of beasts trouble them. %%% Ndizikiriza ensolo zaayo zonna okuva awali amazzi amangi; so n'ekigere ky'abantu tekirigatabangula nate, so n'ebinuulo eby'ensolo tebirigatabangula. 26EZE032.014 Then will I make their waters deep, and cause their rivers to run like oil, saith the Lord GOD. %%% Kale ne ndyoka ntangaaliza amazzi gaabwe, ne nkulukusa emigga gyabwe ng'amafuta, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE032.015 When I shall make the land of Egypt desolate, and the country shall be destitute of that whereof it was full, when I shall smite all them that dwell therein, then shall they know that I am the LORD. %%% Bwe ndirekesaawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ensi eteriimu ebyo bye yajjulanga, bwe ndifumita abo bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama. 26EZE032.016 This is the lamentation wherewith they shall lament her: the daughters of the nations shall lament her: they shall lament for her, even for Egypt, and for all her multitude, saith the Lord GOD. %%% Kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'amawanga balikungubaga bwe batyo: balikungubagira Misiri n'olufulube lwamu lwonna bwe batyo, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE032.017 It came to pass also in the twelfth year, in the fifteenth day of the month, that the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE032.018 Son of man, wail for the multitude of Egypt, and cast them down, even her, and the daughters of the famous nations, unto the nether parts of the earth, with them that go down into the pit. %%% Omwana w'omuntu, kubira ebiwoobe olufulube lwa Misiri, obasuule wansi, ye n'abawala ab'amawanga agaayatiikirira, mu njuyi ez'ensi eza wansi, wamu n'abo abakka mu bunnya. 26EZE032.019 Whom dost thou pass in beauty? go down, and be thou laid with the uncircumcised. %%% Osinga ani obulungi? serengeta oteekebwe wamu n'abatali bakomole: 26EZE032.020 They shall fall in the midst of them that are slain by the sword: she is delivered to the sword: draw her and all her multitudes. %%% Baligwa wakati mu abo abattibwa n'ekitala: aweereddwayo eri ekitala: muggyeewo n'olufulube lwe lwonna. 26EZE032.021 The strong among the mighty shall speak to him out of the midst of hell with them that help him: they are gone down, they lie uncircumcised, slain by the sword. %%% Ab'amaanyi ab'obuyinza balyogera naye nga bayima wakati, mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengese, bagalamidde, basirise, abatali bakomole abattibwa n'ekitala. 26EZE032.022 Asshur is there and all her company: his graves are about him: all of them slain, fallen by the sword: %%% Asuli ali eyo n'ekibiina kye kyonna; amalaalo ge gamwetoolodde: bonna battiddwa, bagudde n'ekitala: 26EZE032.023 Whose graves are set in the sides of the pit, and her company is round about her grave: all of them slain, fallen by the sword, which caused terror in the land of the living. %%% amalaalo gaabwe gateekebwa mu njuyi ez'obunnya ezikomererayo, n'ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge: bonna batiddwa, bagudde n'ekitala, abaaleetanga entiisa mu nsi ey'abalamu. 26EZE032.024 There is Elam and all her multitude round about her grave, all of them slain, fallen by the sword, which are gone down uncircumcised into the nether parts of the earth, which caused their terror in the land of the living; yet have they borne their shame with them that go down to the pit. %%% Eriyo Eramu n'olufulube lwe lwonna nga beetoolodde amalaalo ge: bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abasse nga si bakomole mu njuyi ez'ensi eza wansi, abaaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya. 26EZE032.025 They have set her a bed in the midst of the slain with all her multitude: her graves are round about him: all of them uncircumcised, slain by the sword: though their terror was caused in the land of the living, yet have they borne their shame with them that go down to the pit: he is put in the midst of them that be slain. %%% Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa wamu n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bantu si bakomole, abattiddwa n'ekitala kubanga entiisa yaabwe yaleetebwa nga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya: ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa. 26EZE032.026 There is Meshech, Tubal, and all her multitude: her graves are round about him: all of them uncircumcised, slain by the sword, though they caused their terror in the land of the living. %%% Eriyo Meseki; Tubali, n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bonna abatali bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga baaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu. 26EZE032.027 And they shall not lie with the mighty that are fallen of the uncircumcised, which are gone down to hell with their weapons of war: and they have laid their swords under their heads, but their iniquities shall be upon their bones, though they were the terror of the mighty in the land of the living. %%% So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu. 26EZE032.028 Yea, thou shalt be broken in the midst of the uncircumcised, and shalt lie with them that are slain with the sword. %%% Naye olimenyekera wakati mu batali bakomole, era oligalamira wamu n'abo abattiddwa n'ekitala. 26EZE032.029 There is Edom, her kings, and all her princes, which with their might are laid by them that were slain by the sword: they shall lie with the uncircumcised, and with them that go down to the pit. %%% Eriyo Edomu, bakabaka be n'abakungu be, abateekeddwa mu maanyi gaabwe awamu n'abo abattiddwa n'ekitala: baligalamira n'abatali bakomole n'abo abakka mu bunnya. 26EZE032.030 There be the princes of the north, all of them, and all the Zidonians, which are gone down with the slain; with their terror they are ashamed of their might; and they lie uncircumcised with them that be slain by the sword, and bear their shame with them that go down to the pit. %%% Eriyo abalangira ab'obukiika obwa kkono, bonna, n'Abasidoni bonna, abasse n'abo abattiddwa; newakubadde nga baaleeta entiisa olw'amaanyi gaabwe, bakwatiddwa ensonyi; era bagalamidde nga si bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya. 26EZE032.031 Pharaoh shall see them, and shall be comforted over all his multitude, even Pharaoh and all his army slain by the sword, saith the Lord GOD. %%% Falaawo alibalaba, n'asanyusibwa olw'olufulube lwe lwonna: Falaawo n'eggye lye lyonna abattiddwa n'ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE032.032 For I have caused my terror in the land of the living: and he shall be laid in the midst of the uncircumcised with them that are slain with the sword, even Pharaoh and all his multitude, saith the Lord GOD. %%% Kubanga ntadde entiisa ye mu nsi ey'abalamu: era aliteekebwa wakati mu batali bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ye Falaawo n'olufulube lwe lwonna, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE033.001 Again the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE033.002 Son of man, speak to the children of thy people, and say unto them, When I bring the sword upon a land, if the people of the land take a man of their coasts, and set him for their watchman: %%% Omwana w'omuntu, yogera n'abaana b'abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi bwe baggyanga omusajja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe: 26EZE033.003 If when he seeth the sword come upon the land, he blow the trumpet, and warn the people; %%% bw'alaba ekitala nga kijja ku nsi, oba nga afuuwa ekkondeere n'alabula abantu; 26EZE033.004 Then whosoever heareth the sound of the trumpet, and taketh not warning; if the sword come, and take him away, his blood shall be upon his own head. %%% kale buli awulira okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka, ekitala bwe kijja ne kimuggyawo, kale omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe ye. 26EZE033.005 He heard the sound of the trumpet, and took not warning; his blood shall be upon him. But he that taketh warning shall deliver his soul. %%% Awulidde okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka; omusaayi gwe gunaabanga ku ye: naye singa alabuse yandiwonyezza emmeeme ye. 26EZE033.006 But if the watchman see the sword come, and blow not the trumpet, and the people be not warned; if the sword come, and take any person from among them, he is taken away in his iniquity; but his blood will I require at the watchman's hand. %%% Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gw'omukuumi. 26EZE033.007 So thou, O son of man, I have set thee a watchman unto the house of Israel; therefore thou shalt hear the word at my mouth, and warn them from me %%%7 Naawe bw'otyo, omwana w'omuntu, nkutaddewo okuba omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri; kale, owuliranga ekigambo eri akamwa kange, obawenga okulabula okuva gye ndi: 26EZE033.008 When I say unto the wicked, O wicked man, thou shalt surely die; if thou dost not speak to warn the wicked from his way, that wicked man shall die in his iniquity; but his blood will I require at thine hand. %%% Bwe ŋŋambanga omubi nti Ai omubi, tolirema kufa, n'otoyogera kulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 26EZE033.009 Nevertheless, if thou warn the wicked of his way to turn from it; if he do not turn from his way, he shall die in his iniquity; but thou hast delivered thy soul. %%% Era naye bw'olabulanga omubi ekkubo lye okukyuka okulivaamu, n'atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo. 26EZE033.010 Therefore, O thou son of man, speak unto the house of Israel; Thus ye speak, saying, If our transgressions and our sins be upon us, and we pine away in them, how should we then live? %%% Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti Okusobya kwaffe n'okwonoona kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale twandibadde tutya abalamu? 26EZE033.011 Say unto them, As I live, saith the Lord GOD, I have no pleasure in the death of the wicked; but that the wicked turn from his way and live: turn ye, turn ye from your evil ways; for why will ye die, O house of Israel? %%% Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ai ennyumba ya Isiraeri? 26EZE033.012 Therefore, thou son of man, say unto the children of thy people, The righteousness of the righteous shall not deliver him in the day of his transgression: as for the wickedness of the wicked, he shall not fall thereby in the day that he turneth from his wickedness; neither shall the righteous be able to live for his righteousness in the day that he sinneth. %%% Naawe, omwana w'omuntu, gamba abaana b'abantu bo nti Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimugwisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe: so n'oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona. 26EZE033.013 When I shall say to the righteous, that he shall surely live; if he trust to his own righteousness, and commit iniquity, all his righteousnesses shall not be remembered; but for his iniquity that he hath committed, he shall die for it. %%% Bwe ŋŋamba omutuukirivu nga talirema kuba mulamu; bw'aneesiganga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu ebirijjukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akoze omwo mw'alifiira. 26EZE033.014 Again, when I say unto the wicked, Thou shalt surely die; if he turn from his sin, and do that which is lawful and right; %%% Nate bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; bw'anaakyukanga okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga; 26EZE033.015 If the wicked restore the pledge, give again that he had robbed, walk in the statutes of life, without committing iniquity; he shall surely live, he shall not die. %%% omubi bw'azzangayo omusingo, n'akomyawo ekyo kye yanyaga, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga taliiko butali, butuukirivu bw'akola; talirema kuba mulamu, talifa. 26EZE033.016 None of his sins that he hath committed shall be mentioned unto him: he hath done that which is lawful and right; he shall surely live. %%% Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa eri ye: akoze ebyo ebyalagirwa eby'ensonga; talirema kuba mulamu. 26EZE033.017 Yet the children of thy people say, The way of the Lord is not equal: but as for them, their way is not equal. %%% Era naye abaana b'abantu bo boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana: naye bo ekkubo lyabwe lye litenkanankana. 26EZE033.018 When the righteous turneth from his righteousness, and committeth iniquity, he shall even die thereby. %%% Omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, n'okufa alifiira omwo. 26EZE033.019 But if the wicked turn from his wickedness, and do that which is lawful and right, he shall live thereby. %%% Era omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu olw'ebyo. 26EZE033.020 Yet ye say, The way of the Lord is not equal. O ye house of Israel, I will judge you every one after his ways. %%% Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'amakubo ge bwe gali. 26EZE033.021 And it came to pass in the twelfth year of our captivity, in the tenth month, in the fifth day of the month, that one that had escaped out of Jerusalem came unto me, saying, The city is smitten. %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'okusibibwa kwaffe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano omu eyali awonye mu Yerusaalemi n'ajja gye ndi ng'ayogera nti Ekibuga kikubiddwa. 26EZE033.022 Now the hand of the LORD was upon me in the evening, afore he that was escaped came; and had opened my mouth, until he came to me in the morning; and my mouth was opened, and I was no more dumb. %%% Awo omukono gwa Mukama gwali nga gubadde ku nze akawungeezi, ye awonye nga tannajja; era yali ayasamizza akamwa kange okutuusa lwe yajja gye ndi enkya; akamwa kange ne kayasama, ne ssiba kasiru nate. 26EZE033.023 Then the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE033.024 Son of man, they that inhabit those wastes of the land of Israel speak, saying, Abraham was one, and he inherited the land: but we are many; the land is given us for inheritance. %%% Omwana w'omuntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazika eby'omu nsi ya Isiraeri boogera nti Ibulayimu yali omu, naye n'asikira ensi: naye ffe tuli bangi; ensi etuweereddwa okuba obusika. 26EZE033.025 Wherefore say unto them, Thus saith the Lord GOD; Ye eat with the blood, and lift up your eyes toward your idols, and shed blood: and shall ye possess the land? %%% Kale obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi? 26EZE033.026 Ye stand upon your sword, ye work abomination, and ye defile every one his neighbour's wife: and shall ye possess the land? %%% Muyima ku kitala kyammwe, mukola eby'emizizo, ne mwonoona buli muntu mukazi wa munne: era mulirya ensi? 26EZE033.027 Say thou thus unto them, Thus saith the Lord GOD; As I live, surely they that are in the wastes shall fall by the sword, and him that is in the open field will I give to the beasts to be devoured, and they that be in the forts and in the caves shall die of the pestilence. %%% Bw'oti bw'oba obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazika baligwa n'ekitala, n'oyo ali mu ttale ebweru ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo ne mu mpuku balifa kawumpuli. 26EZE033.028 For I will lay the land most desolate, and the pomp of her strength shall cease; and the mountains of Israel shall be desolate, that none shall pass through. %%% Era ndifuula ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo, n'amalala ag'obuyima bwayo galikoma; n'ensozi za Isiraeri zirirekebwawo, omuntu yenna aleme okuyitamu. 26EZE033.029 Then shall they know that I am the LORD, when I have laid the land most desolate because of all their abominations which they have committed. %%% Kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga nfudde ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo olw'emizizo gyabwe gyonna gye bakoze. 26EZE033.030 Also, thou son of man, the children of thy people still are talking against thee by the walls and in the doors of the houses, and speak one to another, every one to his brother, saying, Come, I pray you, and hear what is the word that cometh forth from the LORD. %%% Naawe, omwana w'omuntu, abaana b'abantu bo bakwogerako awali ebisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, ne bagambagana, buli muntu ng'agamba muganda we nti Mujje, mbeegayiridde, muwulire ekigambo ekivudde eri Mukama. 26EZE033.031 And they come unto thee as the people cometh, and they sit before thee as my people, and they hear thy words, but they will not do them: for with their mouth they shew much love, but their heart goeth after their covetousness. %%% Ne bajja gy'oli ng'abantu bwe bajja, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange ne bawulira ebigambo byange naye ne batabikola: kubanga boolesa okwagala kungi n'akamwa kaabwe, naye omutima gwabwe gugoberera amagoba gaabwe. 26EZE033.032 And, lo, thou art unto them as a very lovely song of one that hath a pleasant voice, and can play well on an instrument: for they hear thy words, but they do them not. %%% Era, laba, oli gye bali ng'oluyimba olulungi ennyo olw'omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ne batabikola. 26EZE033.033 And when this cometh to pass, (lo, it will come,) then shall they know that a prophet hath been among them. %%% Awo ebyo bwe birituukirira (laba, bijja), kale ne balyoka bamanya nga nnabbi abadde mu bo. 26EZE034.001 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE034.002 Son of man, prophesy against the shepherds of Israel, prophesy, and say unto them, Thus saith the Lord GOD unto the shepherds; Woe be to the shepherds of Israel that do feed themselves! should not the shepherds feed the flocks? %%% Omwana w'omuntu, balagulireko abasumba ba Isiraeri, olagule obagambe, ogambe abasumba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebandiriisizza ndiga? 26EZE034.003 Ye eat the fat, and ye clothe you with the wool, ye kill them that are fed: but ye feed not the flock. %%% Mulya masavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ebya ssava; naye ne mutaliisa ndiga. 26EZE034.004 The diseased have ye not strengthened, neither have ye healed that which was sick, neither have ye bound up that which was broken, neither have ye brought again that which was driven away, neither have ye sought that which was lost; but with force and with cruelty have ye ruled them. %%% Eteyinza temugissangamu maanyi; so temuwonyanga erwadde, so temusibanga emenyese, so temukomyangawo egobeddwa, so temunoonyanga ebuze; naye mwazifuganga n'amaanyi n'amawaggali. 26EZE034.005 And they were scattered, because there is no shepherd: and they became meat to all the beasts of the field, when they were scattered. %%% Ne zisaasaana olw'obutabaawo musumba: ne ziba kya kulya era ensolo zonna ez'omu nsiko ne zisaasaana. 26EZE034.006 My sheep wandered through all the mountains, and upon every high hill: yea, my flock was scattered upon all the face of the earth, and none did search or seek after them. %%% Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zaasaasaanira ku maaso g'ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza. 26EZE034.007 Therefore, ye shepherds, hear the word of the LORD; %%% Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: 26EZE034.008 As I live, saith the Lord GOD, surely because my flock became a prey, and my flock became meat to every beast of the field, because there was no shepherd, neither did my shepherds search for my flock, but the shepherds fed themselves, and fed not my flock; %%% Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez'omu nsiko olw'obutabaawo musumba, so n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange; 26EZE034.009 Therefore, O ye shepherds, hear the word of the LORD; %%% kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama; 26EZE034.010 Thus saith the Lord GOD; Behold, I am against the shepherds; and I will require my flock at their hand, and cause them to cease from feeding the flock; neither shall the shepherds feed themselves any more; for I will deliver my flock from their mouth, that they may not be meat for them. %%% bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba ekyokulya eri bo. 26EZE034.011 For thus saith the Lord GOD; Behold, I, even I, will both search my sheep, and seek them out. %%% Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza. 26EZE034.012 As a shepherd seeketh out his flock in the day that he is among his sheep that are scattered; so will I seek out my sheep, and will deliver them out of all places where they have been scattered in the cloudy and dark day. %%% Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziwonya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza. 26EZE034.013 And I will bring them out from the people, and gather them from the countries, and will bring them to their own land, and feed them upon the mountains of Israel by the rivers, and in all the inhabited places of the country. %%% Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi. 26EZE034.014 I will feed them in a good pasture, and upon the high mountains of Israel shall their fold be: there shall they lie in a good fold, and in a fat pasture shall they feed upon the mountains of Israel. %%% Ndiziriisa omuddo omulungi, era ku nsozi ez'entikko ya Isiraeri kwe kuliba ekisibo kyabwe: eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi, ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri. 26EZE034.015 I will feed my flock, and I will cause them to lie down, saith the Lord GOD. %%% Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE034.016 I will seek that which was lost, and bring again that which was driven away, and will bind up that which was broken, and will strengthen that which was sick: but I will destroy the fat and the strong; I will feed them with judgment. %%% Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n'ebya ssava n'eby'amaanyi ndibizikiriza; ndibiriisa n'omusango. 26EZE034.017 And as for you, O my flock, thus saith the Lord GOD; Behold, I judge between cattle and cattle, between the rams and the he goats. %%% Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume. 26EZE034.018 Seemeth it a small thing unto you to have eaten up the good pasture, but ye must tread down with your feet the residue of your pastures? and to have drunk of the deep waters, but ye must foul the residue with your feet? %%% Mukiyita kigambo kitono nga mwalya omuddo omulungi, naye ne kibagwanira okulinnyirira n'ebigere byammwe omuddo gwammwe ogwafikkawo? era nga mwanywa amazzi amateefu, naye ne kibagwanira okutabangula n'ebigere byammwe agafisseewo? 26EZE034.019 And as for my flock, they eat that which ye have trodden with your feet; and they drink that which ye have fouled with your feet. %%% N'endiga zange zirya ebyo bye mulinnyiridde n'ebigere byammwe, ne zinywa ago ge mutabangudde n'ebigere byammwe. 26EZE034.020 Therefore thus saith the Lord GOD unto them; Behold, I, even I, will judge between the fat cattle and between the lean cattle. %%% Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango ogw'ensolo eza ssava n'ogw'ensolo enkovvu. 26EZE034.021 Because ye have thrust with side and with shoulder, and pushed all the diseased with your horns, till ye have scattered them abroad; %%% Kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega, ne mutomeza ezirwadde zonna amayembe gammwe okutuusa lwe muzisaasaanyiza ddala; 26EZE034.022 Therefore will I save my flock, and they shall no more be a prey; and I will judge between cattle and cattle. %%% kyendiva mponya ekisibo kyange, so teziriba nate muyiggo; nange ndisala omusango ogw'ensolo n'ensolo. 26EZE034.023 And I will set up one shepherd over them, and he shall feed them, even my servant David; he shall feed them, and he shall be their shepherd. %%% Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi; ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo. 26EZE034.024 And I the LORD will be their God, and my servant David a prince among them; I the LORD have spoken it. %%% Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo; nze Mukama nkyogedde. 26EZE034.025 And I will make with them a covenant of peace, and will cause the evil beasts to cease out of the land: and they shall dwell safely in the wilderness, and sleep in the woods. %%% Era ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, era ndikomya mu nsi ensolo embi: kale balituula mu ddungu nga tebaliiko kye batya, ne beebakira mu bibira. 26EZE034.026 And I will make them and the places round about my hill a blessing; and I will cause the shower to come down in his season; there shall be showers of blessing. %%% Era ndibafuula omukisa n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa oluwandaggirize mu ntuuko zaalwo; walibaawo empandaggirize ez'omukisa. 26EZE034.027 And the tree of the field shall yield her fruit, and the earth shall yield her increase, and they shall be safe in their land, and shall know that I am the LORD, when I have broken the bands of their yoke, and delivered them out of the hand of those that served themselves of them. %%% N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu. 26EZE034.028 And they shall no more be a prey to the heathen, neither shall the beast of the land devour them; but they shall dwell safely, and none shall make them afraid. %%% So tebaliba muyiggo nate eri ab'amawanga, so n'ensolo ey'omu nsi teribalya; naye balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa. 26EZE034.029 And I will raise up for them a plant of renown, and they shall be no more consumed with hunger in the land, neither bear the shame of the heathen any more. %%% Era ndibayimusiza olusuku olw'okwatiikirira, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate. 26EZE034.030 Thus shall they know that I the LORD their God am with them, and that they, even the house of Israel, are my people, saith the Lord GOD. %%% Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga bo, ennyumba ya Isiraeri, be bantu bange, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE034.031 And ye my flock, the flock of my pasture, are men, and I am your God, saith the Lord GOD. %%% Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE035.001 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE035.002 Son of man, set thy face against mount Seir, and prophesy against it, %%% Omwana w'omuntu; simba amaaso go okwolekera olusozi Seyiri; olulagulireko 26EZE035.003 And say unto it, Thus saith the Lord GOD; Behold, O mount Seir, I am against thee, and I will stretch out mine hand against thee, and I will make thee most desolate. %%% olugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi Seyiri; era ndikugololerako omukono gwange, era ndikufuula okuba amatongo n'ekyewuunyo. 26EZE035.004 I will lay thy cities waste, and thou shalt be desolate, and thou shalt know that I am the LORD. %%% Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo; kale olimanya nga nze Mukama. 26EZE035.005 Because thou hast had a perpetual hatred, and hast shed the blood of the children of Israel by the force of the sword in the time of their calamity, in the time that their iniquity had an end: %%% Kubanga wabanga n'obulabe obutaggwaawo, n'owaayo abaana ba Isiraeri eri obuyinza obw'ekitala mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero: 26EZE035.006 Therefore, as I live, saith the Lord GOD, I will prepare thee unto blood, and blood shall pursue thee: sith thou hast not hated blood, even blood shall pursue thee. %%% kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, amusaayi kyeguliva gukucocca. 26EZE035.007 Thus will I make mount Seir most desolate, and cut off from it him that passeth out and him that returneth. %%% Bwe ntyo ndifuula olusozi Seyiri okuba ekyewuunyo n'amatongo; era ndimalawo okwo oyo ayitamu n'oyo akomawo. 26EZE035.008 And I will fill his mountains with his slain men: in thy hills, and in thy valleys, and in all thy rivers, shall they fall that are slain with the sword. %%% Era ndijjuza ensozi zaayo abaayo abattibwa: abattibwa n'ekitala baligwa ku nsozi zo ne mu biwonvu byo ne mu nsalosalo zo zonna ez'amazzi. 26EZE035.009 I will make thee perpetual desolations, and thy cities shall not return: and ye shall know that I am the LORD. %%% Ndifukuula amatongo agataliggwaawo, so n'ebibuga byo tebirituulwamu: kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE035.010 Because thou hast said, These two nations and these two countries shall be mine, and we will possess it; whereas the LORD was there: %%% Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi biriba byange, naffe tuligirya; naye Mukama yali eyo: 26EZE035.011 Therefore, as I live, saith the Lord GOD, I will even do according to thine anger, and according to thine envy which thou hast used out of thy hatred against them; and I will make myself known among them, when I have judged thee. %%% kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, ndikola ng'obusungu bwo bwe buli era ng'obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango. 26EZE035.012 And thou shalt know that I am the LORD, and that I have heard all thy blasphemies which thou hast spoken against the mountains of Israel, saying, They are laid desolate, they are given us to consume. %%% Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya. 26EZE035.013 Thus with your mouth ye have boasted against me, and have multiplied your words against me: I have heard them. %%% Era mwanneegulumirizaako n'akamwa kammwe, era munnyongeddeko ebigambo byammwe: nze mpulidde. 26EZE035.014 Thus saith the Lord GOD; When the whole earth rejoiceth, I will make thee desolate. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ettaka lyonna bwe lirisanyuka, ndikufuula ggwe amatongo. 26EZE035.015 As thou didst rejoice at the inheritance of the house of Israel, because it was desolate, so will I do unto thee: thou shalt be desolate, O mount Seir, and all Idumea, even all of it: and they shall know that I am the LORD. %%% Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri kubanga bwafuulwa amatongo, bwe ntyo bwe ndikukola ggwe: oliba nga ofuuliddwa amatongo, si olusozi Seyiri ne Edomu yonna, yonna bwe yenkana: kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE036.001 Also, thou son of man, prophesy unto the mountains of Israel, and say, Ye mountains of Israel, hear the word of the LORD: %%% Naawe, omwana w'omuntu, lagula ensozi za Isiraeri oyogere nti Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama. 26EZE036.002 Thus saith the Lord GOD; Because the enemy hath said against you, Aha, even the ancient high places are ours in possession: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga omulabe aboogeddeko nti Nyeenya! era nti Ebifo ebigulumivu eby'edda byaffe, tubiridde: 26EZE036.003 Therefore prophesy and say, Thus saith the Lord GOD; Because they have made you desolate, and swallowed you up on every side, that ye might be a possession unto the residue of the heathen, and ye are taken up in the lips of talkers, and are an infamy of the people: %%% kale lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga, kubanga babalekesezzaawo, era babalidde enjuyi zonna, amawanga agafisseewo gabalye, era musituliddwa mu mimwa gy'aboogezi ne mu bigambo ebibi eby'abantu: 26EZE036.004 Therefore, ye mountains of Israel, hear the word of the Lord GOD; Thus saith the Lord GOD to the mountains, and to the hills, to the rivers, and to the valleys, to the desolate wastes, and to the cities that are forsaken, which became a prey and derision to the residue of the heathen that are round about; %%% kale, mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda; bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, amatongo agaazika n'ebibuga ebyalekebwawo, ebifuuse omuyiggo n'eky'okusekererwa eri amawanga agafisseewo ageetoolodde: 26EZE036.005 Therefore thus saith the Lord GOD; Surely in the fire of my jealousy have I spoken against the residue of the heathen, and against all Idumea, which have appointed my land into their possession with the joy of all their heart, with despiteful minds, to cast it out for a prey. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Mazima njogeredde mu muliro ogw'obuggya bwange eri amawanga agafisseewo n'eri Edomu yonna abeeteekeddewo ensi yange okugirya, omutima gwabwe gwonna nga gusanyuse, emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugisuula okuba omuyiggo: 26EZE036.006 Prophesy therefore concerning the land of Israel, and say unto the mountains, and to the hills, to the rivers, and to the valleys, Thus saith the Lord GOD; Behold, I have spoken in my jealousy and in my fury, because ye have borne the shame of the heathen: %%% kale lagula eby'ensi ya Isiraeri ogambe ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, njogezezza obuggya bwange n'ekiruyi kyange, kubanga mwabangako ensonyi ez'ab'amawanga: 26EZE036.007 Therefore thus saith the Lord GOD; I have lifted up mine hand, Surely the heathen that are about you, they shall bear their shame. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nnyimusizza omukono gwange nga njogera nti Mazima ab'amawanga agabeetoolodde abo be balibaako ensonyi zaabwe. 26EZE036.008 But ye, O mountains of Israel, ye shall shoot forth your branches, and yield your fruit to my people of Israel; for they are at hand to come. %%% Naye mmwe, ai ensozi za Isiraeri, mulisuula amatabi gammwe, ne mubalira abantu bange Isiraeri ebibala byammwe; kubanga banaatera okujja. Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndikyukira gye muli, nammwe mulirimibwa, mulisigibwa: 26EZE036.009 For, behold, I am for you, and I will turn unto you, and ye shall be tilled and sown: %%% Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndikyukira gye muli, nammwe mulirimibwa, mulisigibwa: 26EZE036.010 And I will multiply men upon you, all the house of Israel, even all of it: and the cities shall be inhabited, and the wastes shall be builded: %%% era ndyaliza abantu ku mmwe, ennyumba yonna eya Isiraeri, yonna bwe yenkana n'ebibuga birituulwamu n'amatongo galizimbibwa: 26EZE036.011 And I will multiply upon you man and beast; and they shall increase and bring fruit: and I will settle you after your old estates, and will do better unto you than at your beginnings: and ye shall know that I am the LORD. %%% era ndyaza ku mmwe abantu n'ensolo; era balyeyongera, balizaala: era ndibawa okutuulwako, nga mumaze okuba bwe mutyo, era ndibakola bulungi okusinga bwe nnakola mu kusooka kwammwe: kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE036.012 Yea, I will cause men to walk upon you, even my people Israel; and they shall possess thee, and thou shalt be their inheritance, and thou shalt no more henceforth bereave them of men. %%% Weewaawo, nditambuliza ku mmwe abantu, abantu bange Isiraeri; era balikulya, naawe oliba busika bwabwe, so tolibafiiriza nate abaana okuva leero. 26EZE036.013 Thus saith the Lord GOD; Because they say unto you, Thou land devourest up men, and hast bereaved thy nations; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga babagamba nti Ggwe ensi, oli muli wa bantu, era waliisizanga eggwanga lyo; 26EZE036.014 Therefore thou shalt devour men no more, neither bereave thy nations any more, saith the Lord GOD. %%% kyoliva olema okulya abantu nate, so tolifiisiza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda; 26EZE036.015 Neither will I cause men to hear in thee the shame of the heathen any more, neither shalt thou bear the reproach of the people any more, neither shalt thou cause thy nations to fall any more, saith the Lord GOD. %%% so sirikuganya nate okuwulira ensonyi z'ab'amawanga, so tolibaako nate kuvumibwa kwa bantu, so tolyesittaza nate ggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE036.016 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE036.017 Son of man, when the house of Israel dwelt in their own land, they defiled it by their own way and by their doings: their way was before me as the uncleanness of a removed woman. %%% Omwana w'omuntu, ennyu mba ya Isiraeri bwe baatuulanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw'ekkubo lyabwe n'olw'ebikolwa byabwe: ekkubo lyabwe mu maaso gange lyabanga ng'obutali bulongoofu bwa mukazi mu kweyawula kwe. 26EZE036.018 Wherefore I poured my fury upon them for the blood that they had shed upon the land, and for their idols wherewith they had polluted it: %%% Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw'omusaayi bo gwe baali bafuse ku nsi, era kubanga baali bagyonoonye n'ebifaananyi byabwe: 26EZE036.019 And I scattered them among the heathen, and they were dispersed through the countries: according to their way and according to their doings I judged them. %%% ne mbasaasaanyiza mu mawanga ne bataataaganira mu nsi nnyingi: nnabasalira omusango ng'ekkubo lyabwe bwe lyali era ng'ebikolwa byabwe bwe byali. 26EZE036.020 And when they entered unto the heathen, whither they went, they profaned my holy name, when they said to them, These are the people of the LORD, and are gone forth out of his land. %%% Awo bwe baatuuka mu mawanga gye baagenda, ne bavumisa erinnya lyange ettukuvu; kubanga abantu baaboogerangako nti Bano bantu ba Mukama, era bavudde mu nsi ye. 26EZE036.021 But I had pity for mine holy name, which the house of Israel had profaned among the heathen, whither they went. %%% Naye ne nsaasira erinnya lyange ettukuvu ennyumba ya Isiraeri lye baali bavumisizza mu mawanga gye baagenda. 26EZE036.022 Therefore say unto the house of Israel, Thus saith the Lord GOD; I do not this for your sakes, O house of Israel, but for mine holy name's sake, which ye have profaned among the heathen, whither ye went. %%% Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Sikola kino ku lwammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, naye ku lw'erinnya lyange ettukuvu lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda. 26EZE036.023 And I will sanctify my great name, which was profaned among the heathen, which ye have profaned in the midst of them; and the heathen shall know that I am the LORD, saith the Lord GOD, when I shall be sanctified in you before their eyes. %%% Era nditukuza erinnya lyange ekkulu eryavumisibwa mu mawanga, mmwe lye muvumisizza wakati mu go; kale amawanga galimanya nga nze Mukama, bw'ayogera Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu mmwe mu maaso gaabwe. 26EZE036.024 For I will take you from among the heathen, and gather you out of all countries, and will bring you into your own land. %%% Kubanga ndibaggya mu mawanga, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna, ne mbayingiza mu nsi yammwe mmwe. 26EZE036.025 Then will I sprinkle clean water upon you, and ye shall be clean: from all your filthiness, and from all your idols, will I cleanse you. %%% Era ndibamansirako amazzi amalungi, era muliba balongoofu: ndibalongoosa mu mpitambi yammwe yonna ne mu bifaananyi byammwe byonna. 26EZE036.026 A new heart also will I give you, and a new spirit will I put within you: and I will take away the stony heart out of your flesh, and I will give you an heart of flesh. %%% Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe: era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama. 26EZE036.027 And I will put my spirit within you, and cause you to walk in my statutes, and ye shall keep my judgments, and do them. %%% Era nditeeka omwoyo gwange munda mu mmwe, ne mbatambuliza mu mateeka gange, era mulikwata emisango gyange ne mugikola. 26EZE036.028 And ye shall dwell in the land that I gave to your fathers; and ye shall be my people, and I will be your God. %%% Awo munaabeeranga mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; nammwe munaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda wammwe. 26EZE036.029 I will also save you from all your uncleannesses: and I will call for the corn, and will increase it, and lay no famine upon you. %%% Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwammwe bwonna: era ndiyita eŋŋaano, ne ngyaza, so siribaleetako njala. 26EZE036.030 And I will multiply the fruit of the tree, and the increase of the field, that ye shall receive no more reproach of famine among the heathen. %%% Era ndyaza ebibala eby'emiti, n'ekyengera eky'omu nnimiro, mulemenga okuweebwa nate ekivume eky'enjala mu mawanga. 26EZE036.031 Then shall ye remember your own evil ways, and your doings that were not good, and shall lothe yourselves in your own sight for your iniquities and for your abominations. %%% Kale ne mulyoka mujjukira amakubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebitali birungi; kale mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'obutali butuukirivu bwammwe n'olw'emizizo gyammwe. 26EZE036.032 Not for your sakes do I this, saith the Lord GOD, be it known unto you: be ashamed and confounded for your own ways, O house of Israel. %%% Sikola kino ku lwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda, mukimanye: mukwatirwe ensonyi amakubo gammwe, muswale, ai ennyumba ya Isiraeri. 26EZE036.033 Thus saith the Lord GOD; In the day that I shall have cleansed you from all your iniquities I will also cause you to dwell in the cities, and the wastes shall be builded. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanaalizaako obutali butuukirivu bwammwe bwonna, ndituuza abantu mu bibuga, n’amatongo galizimbibwa 26EZE036.034 And the desolate land shall be tilled, whereas it lay desolate in the sight of all that passed by. %%% N'ensi eyalekebwangawo eririmibwa, naye yabanga nsiko mu maaso g'abo bonna abayitawo. 26EZE036.035 And they shall say, This land that was desolate is become like the garden of Eden; and the waste and desolate and ruined cities are become fenced, and are inhabited. %%% Kale balyogera nti Ensi eno eyalekebwangawo efuuse ng'olusuku Adeni; n'ebibuga ebyazika ebyalekebwawo ebyagwa bikoleddwako enkomera, abantu ne babituulamu. 26EZE036.036 Then the heathen that are left round about you shall know that I the LORD build the ruined places, and plant that that was desolate: I the LORD have spoken it, and I will do it. %%% Kale amawanga agasigadde okubeetooloola ne galyoka gamanya nga nze Mukama nzimbye ebifo ebyagwa ne nsimba ekyo ekyalekebwawo: nze Mukama nkyogedde, nange ndikikola. 26EZE036.037 Thus saith the Lord GOD; I will yet for this be enquired of by the house of Israel, to do it for them; I will increase them with men like a flock. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ajagala ennyumba ya Isiraeri okumbuuzanga ekyo okukibakolera; ndibongerako abantu ng'ekisibo. 26EZE036.038 As the holy flock, as the flock of Jerusalem in her solemn feasts; so shall the waste cities be filled with flocks of men: and they shall know that I am the LORD. %%% Ng'ekisibo ekya ssaddaaka, ng'ekisibo ekya Yerusaalemi mu mbaga zaakyo ezaalagirwa; ebibuga ebyazika bwe birijjula bwe bityo ebisibo eby'abaatu: kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE037.001 The hand of the LORD was upon me, and carried me out in the spirit of the LORD, and set me down in the midst of the valley which was full of bones, %%% Omukono gwa Mukama gwali ku nze, n'antwala n'anfulumiza mu mwoyo gwa Mukama, n'anzisa wakati mu kiwonvu; kale nga kijjudde amagumba; 26EZE037.002 And caused me to pass by them round about: and, behold, there were very many in the open valley; and, lo, they were very dry. %%% n'agampisaako okugeetooloola: kale, laba, nga mangi nnyo mu kiwonvu mu bbanga; era, laba, makalu nnyo. 26EZE037.003 And he said unto me, Son of man, can these bones live? And I answered, O Lord GOD, thou knowest. %%% N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu? Ne nziramu nti Ai Mukama Katonda, ggwe omanyi. 26EZE037.004 Again he said unto me, Prophesy upon these bones, and say unto them, O ye dry bones, hear the word of the LORD. %%% N'aŋŋamba nate nti Lagulira ku magumba gano ogagambe nti Ai mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama. 26EZE037.005 Thus saith the Lord GOD unto these bones; Behold, I will cause breath to enter into you, and ye shall live: %%% Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba amagumba gano nti Laba, ndiyingiza omukka mu mmwe; kale muliba balamu: 26EZE037.006 And I will lay sinews upon you, and will bring up flesh upon you, and cover you with skin, and put breath in you, and ye shall live; and ye shall know that I am the LORD. %%% Era ndibateekako ebinywa, era ndireeta ennyama ku mmwe, ne mbabikkako eddiba, ne mbateekamu omukka, kale mulimanya nga nze Mukama. 26EZE037.007 So I prophesied as I was commanded: and as I prophesied, there was a noise, and behold a shaking, and the bones came together, bone to his bone. %%% Awo ne ndagula nga bwe nnalagirwa: awo bwe nnali nga ndagula, ne wabaawo eddoboozi, era, laba, ekikankano ky'ensi, amagumba ne geegatta buli ggumba n'eggumba linnaalyo. 26EZE037.008 And when I beheld, lo, the sinews and the flesh came up upon them, and the skin covered them above: but there was no breath in them. %%% Awo ne ntunula, era, laba, nga kuliko ebinywa, omubiri ne gujja, eddiba ne ligabikkako waggulu: naye nga temuli mukka mu go. 26EZE037.009 Then said he unto me, Prophesy unto the wind, prophesy, son of man, and say to the wind, Thus saith the Lord GOD; Come from the four winds, O breath, and breathe upon these slain, that they may live. %%% Awo n'aŋŋamba nti Lagula empewo, lagula, omwana w'omuntu, ogambe empewo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti jjangu okuva eri empewo ennya, ai omukka, ofuuwe ku bano abattibwa, babeere abalamu. 26EZE037.010 So I prophesied as he commanded me, and the breath came into them, and they lived, and stood up upon their feet, an exceeding great army. %%% Awo ne ndagula nga bwe yandagira, omukka ne gubayingira, ne babeera balamu, ne bayimirira ku bigere byabwe, eggye lingi nnyo. 26EZE037.011 Then he said unto me, Son of man, these bones are the whole house of Israel: behold, they say, Our bones are dried, and our hope is lost: we are cut off for our parts. %%% Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isiraeri: laba, boogera nti Amagumba gaffe gakaze, n'essuubi lyafe libuze; tumaliddwawo ddala. 26EZE037.012 Therefore prophesy and say unto them, Thus saith the Lord GOD; Behold, O my people, I will open your graves, and cause you to come up out of your graves, and bring you into the land of Israel. %%% Kale lagula obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ai abantu bange: era ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri. 26EZE037.013 And ye shall know that I am the LORD, when I have opened your graves, O my people, and brought you up out of your graves, %%% Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga njasamizza amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ai abantu bange. 26EZE037.014 And shall put my spirit in you, and ye shall live, and I shall place you in your own land: then shall ye know that I the LORD have spoken it, and performed it, saith the LORD. %%% Era nditeeka omwoyo gwange mu mmwe, era muliba balamu, era ndibateeka mu nsi yammwe mmwe: kale mulimanya nga aze Mukama nkyogedde, era n'okutuukiriza ne nkituukiriza, bw'ayogera Mukama. 26EZE037.015 The word of the LORD came again unto me, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera 26EZE037.016 Moreover, thou son of man, take thee one stick, and write upon it, For Judah, and for the children of Israel his companions: then take another stick, and write upon it, For Joseph, the stick of Ephraim, and for all the house of Israel his companions: %%% Naawe, omwana w'omuntu, ddira omuggo gumu, oguwandiikeko nti Gwa Yuda, era gwa baana ba Isiraeri banne: olyokke oddire omuggo omulala oguwandiikeko nti Gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu, era gwa nnyumba yonna eya Isiraeri banne: 26EZE037.017 And join them one to another into one stick; and they shall become one in thine hand. %%% kale ogyegattire gyombi okuba omuggo ogumu, gibeere ogumu mu mukono gwo. 26EZE037.018 And when the children of thy people shall speak unto thee, saying, Wilt thou not shew us what thou meanest by these? %%% Awo abaana b'abantu bo bwe balyogera naawe nga bagamba nti Tootunnyonnyole makulu bwe gali g'oleeta na gino? 26EZE037.019 Say unto them, Thus saith the Lord GOD; Behold, I will take the stick of Joseph, which is in the hand of Ephraim, and the tribes of Israel his fellows, and will put them with him, even with the stick of Judah, and make them one stick, and they shall be one in mine hand. %%% n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n'ebika bya Isiraeri banne; era ndibateeka wamu nagwo, wamu n'omuggo gwa Yuda, ne mbafuula omuggo gumu, kale ne baba gumu mu mukono gwange. 26EZE037.020 And the sticks whereon thou writest shall be in thine hand before their eyes. %%% N'emiggo gy'owandiikako giriba mu mukono gwo mu maaso gaabwe. 26EZE037.021 And say unto them, Thus saith the Lord GOD; Behold, I will take the children of Israel from among the heathen, whither they be gone, and will gather them on every side, and bring them into their own land: %%% N'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiggya abaana ba Isiraeri wakati mu mawanga, gye baagenda, ne mbakuŋŋaanyiza enjuyi zonna, ne mbaleeta mu nsi yaabwe bo: 26EZE037.022 And I will make them one nation in the land upon the mountains of Israel; and one king shall be king to them all: and they shall be no more two nations, neither shall they be divided into two kingdoms any more at all: %%% kale ndibafuula eggwanga erimu mu nsi ku nsozi za Isiraeri; era kabaka omu ye aliba kabaka waabwe bonna: so tebalyawulibwa nate okuba obwakabaka bubiri n'akatono: 26EZE037.023 Neither shall they defile themselves any more with their idols, nor with their detestable things, nor with any of their transgressions: but I will save them out of all their dwellingplaces, wherein they have sinned, and will cleanse them: so shall they be my people, and I will be their God. %%% so tebalyeyonoona nate n'ebifaananyi byabwe newakubadde n'ebintu byabwe eby'emizizo newakubadde n'okusobya kwabwe kwonna: naye ndibalokola okuva mu nnyumba zaabwe zonna, mwe baakoleranga ebibi, ne mbalongoosa: kale bwe batyo banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe. 26EZE037.024 And David my servant shall be king over them; and they all shall have one shepherd: they shall also walk in my judgments, and observe my statutes, and do them. %%% N'omuddu wange Dawudi ye aliba kabaka waabwe; era bonna baliba n'omusumba omu: era n'okutambuba balitambulira mu misango gyange ne bakwata amateeka gange ne bagakola. 26EZE037.025 And they shall dwell in the land that I have given unto Jacob my servant, wherein your fathers have dwelt; and they shall dwell therein, even they, and their children, and their children's children for ever: and my servant David shall be their prince for ever. %%% Era balibeera mu nsi gye nnawa Yakobo omuddu wange bajjajjammwe mwe baabeera kale balibeera omwo, bo n'abaana baabwe n'abaana b'abaana baabwe emirembe gyonna: era Dawudi omuddu wange ye anaabanga omulangira waabwe emirembe gyonna. 26EZE037.026 Moreover I will make a covenant of peace with them; it shall be an everlasting covenant with them: and I will place them, and multiply them, and will set my sanctuary in the midst of them for evermore. %%% Era nate ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, eneebanga ndagaano eteriggwaawo gye bali: era ndibateekawo ne mbaaza, era nditeeka awatukuvu wange wakati mu bo emirembe gyonna. 26EZE037.027 My tabernacle also shall be with them: yea, I will be their God, and they shall be my people. %%% Era n'eweema yange eneebanga nabo: nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange. 26EZE037.028 And the heathen shall know that I the LORD do sanctify Israel, when my sanctuary shall be in the midst of them for evermore. %%% Kale amawanga galimanya nga nze Mukama atukuza Isiraeri, awatukuvu wange bwe wanaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna. 26EZE038.001 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 26EZE038.002 Son of man, set thy face against Gog, the land of Magog, the chief prince of Meshech and Tubal, and prophesy against him, %%% Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Googi ow'omu nsi ya Magoogi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali, omulagulireko 26EZE038.003 And say, Thus saith the Lord GOD; Behold, I am against thee, O Gog, the chief prince of Meshech and Tubal: %%% oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali: 26EZE038.004 And I will turn thee back, and put hooks into thy jaws, and I will bring thee forth, and all thine army, horses and horsemen, all of them clothed with all sorts of armour, even a great company with bucklers and shields, all of them handling swords: %%% era ndikuzzaayo, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndikufulumya n'eggye yo lyonna, embalaasi n'abasajja abeebagadde embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa ebyatuukirira, ekibiina ekinene, nga balina obugabo n'engabo, bonna nga bakutte ebitala: 26EZE038.005 Persia, Ethiopia, and Libya with them; all of them with shield and helmet: %%% Obuperusi, Kuusi, ne Puti nga bali nabo; bonna nga balina engabo n'enkuffiira: 26EZE038.006 Gomer, and all his bands; the house of Togarmah of the north quarters, and all his bands: and many people with thee. %%% Gomeri n'eggye lye lyonna; ennyumba ya Togaluma, mu njuyi ez'ensi ezikomererayo; n'eggye lye lyonna: amawanga mangi nga gali naawe. 26EZE038.007 Be thou prepared, and prepare for thyself, thou, and all thy company that are assembled unto thee, and be thou a guard unto them. %%% Beera nga weeteeseteese, weewaawo, weetegeke, ggwe n'ebibiina byo byonna abakuŋŋaanidde gy'oli, obeere omugabe gye bali. 26EZE038.008 After many days thou shalt be visited: in the latter years thou shalt come into the land that is brought back from the sword, and is gathered out of many people, against the mountains of Israel, which have been always waste: but it is brought forth out of the nations, and they shall dwell safely all of them. %%% Ennaku nnyingi nga ziyiseewo olijjirwa: mu myaka egy'enkomerero olireetebwa mu nsi ekomezebwawo okugiggya nu kitala, ekuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaabanga ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko kye batya, bonna. 26EZE038.009 Thou shalt ascend and come like a storm, thou shalt be like a cloud to cover the land, thou, and all thy bands, and many people with thee. %%% Kale olyambuka olijja nga kibuyaga, oliba ng'ekire okubikka ku nsi, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga mangi nga gali naawe. 26EZE038.010 Thus saith the Lord GOD; It shall also come to pass, that at the same time shall things come into thy mind, and thou shalt think an evil thought: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebigambo birijja mu mwoyo gwo, era olisala olukwe olubi: 26EZE038.011 And thou shalt say, I will go up to the land of unwalled villages; I will go to them that are at rest, that dwell safely, all of them dwelling without walls, and having neither bars nor gates, %%% kale olyogera nti Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeerera awo awatali babbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi: 26EZE038.012 To take a spoil, and to take a prey; to turn thine hand upon the desolate places that are now inhabited, and upon the people that are gathered out of the nations, which have gotten cattle and goods, that dwell in the midst of the land. %%% okunyaga omunyago n'okunyaga omuyiggo; okukyusiza omukono gwo ku bifo eby'ensiko ebituulwamu kaakano, n'abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n'ebintu, ababeera wakati w'ensi zonna. 26EZE038.013 Sheba, and Dedan, and the merchants of Tarshish, with all the young lions thereof, shall say unto thee, Art thou come to take a spoil? hast thou gathered thy company to take a prey? to carry away silver and gold, to take away cattle and goods, to take a great spoil? %%% Seeba ne Dedani n'abasuubuzi ab'e Talusiisi, wamu n'empologoma ento zaayo zonna, balikugamba nti Ozze kunyaga munyago? okuŋŋaanyizza ekibiina kyo kunyaga muyiggo? okutwalira ddala effeeza n'ezaabu, okutwalira ddala ensolo n'ebintu, okunyaga omunyago mungi? 26EZE038.014 Therefore, son of man, prophesy and say unto Gog, Thus saith the Lord GOD; In that day when my people of Israel dwelleth safely, shalt thou not know it? %%% Kale, omwana w'omuntu, lagula ogambe Googi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku olwo abantu bange Isiraeri lwe balituula nga tebaliiko kye batya, tolikimanya? 26EZE038.015 And thou shalt come from thy place out of the north parts, thou, and many people with thee, all of them riding upon horses, a great company, and a mighty army: %%% Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene: 26EZE038.016 And thou shalt come up against my people of Israel, as a cloud to cover the land; it shall be in the latter days, and I will bring thee against my land, that the heathen may know me, when I shall be sanctified in thee, O Gog, before their eyes. %%% era olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'ekire okubikka ku nsi; olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, bwe nditukuzibwa mu ggwe, ai Googi, mu maaso gaabwe. 26EZE038.017 Thus saith the Lord GOD; Art thou he of whom I have spoken in old time by my servants the prophets of Israel, which prophesied in those days many years that I would bring thee against them? %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggwe wuuyo gwe nnayogererako edda mu baddu bange bannabbi ba Isiraeri, abaalaguliranga emyaka emingi mu nnaku ezo nga ndikusindika okubatabaala bo? 26EZE038.018 And it shall come to pass at the same time when Gog shall come against the land of Israel, saith the Lord GOD, that my fury shall come up in my face. %%% Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, ekiruyi kyange kiririnnya mu nnyindo zange. 26EZE038.019 For in my jealousy and in the fire of my wrath have I spoken, Surely in that day there shall be a great shaking in the land of Israel; %%% Kubanga njogezezza obuggya bwange n'omuliro ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ya Isiraeri mulibaamu okukankana okunene; 26EZE038.020 So that the fishes of the sea, and the fowls of the heaven, and the beasts of the field, and all creeping things that creep upon the earth, and all the men that are upon the face of the earth, shall shake at my presence, and the mountains shall be thrown down, and the steep places shall fall, and every wall shall fall to the ground. %%% ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsiko, n'ebintu byonna, ebyewalula ebyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku maaso g'ensi n'okukankana balikankanira okujja kwange, n'ensozi zirisuulibwa, n'amabanga galigwa, na buli bbugwe aligwa wansi. 26EZE038.021 And I will call for a sword against him throughout all my mountains, saith the Lord GOD: every man's sword shall be against his brother. %%% Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw'ayogera Mukama Katonda: ekitala kya buli muntu kirirwana ne muganda we. 26EZE038.022 And I will plead against him with pestilence and with blood; and I will rain upon him, and upon his bands, and upon the many people that are with him, an overflowing rain, and great hailstones, fire, and brimstone. %%% Era ndiwoza naye ne kawumpuli n'omusaayi; era ndimutonnyesaako ne ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye oluwandaggirize olwanjaala n'amayinja amanene ag'omuzira n'omuliro n'ekibiriiti. 26EZE038.023 Thus will I magnify myself, and sanctify myself; and I will be known in the eyes of many nations, and they shall know that I am the LORD. %%% Era ndyegulumiza ne nneetukuza, era ndyemanyisa mu maaso g'amawanga amangi; kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE039.001 Therefore, thou son of man, prophesy against Gog, and say, Thus saith the Lord GOD; Behold, I am against thee, O Gog, the chief prince of Meshech and Tubal: %%% Naawe, omwana w'omuntu, mulagulireko Googi oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali: 26EZE039.002 And I will turn thee back, and leave but the sixth part of thee, and will cause thee to come up from the north parts, and will bring thee upon the mountains of Israel: %%% era ndikuzzaayo, ne nkutwala mu maaso ne nkulinnyisa okuva mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo; ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri: 26EZE039.003 And I will smite thy bow out of thy left hand, and will cause thine arrows to fall out of thy right hand. %%% era ndikuba omutego gwo ne nguggya mu mukono gwo ogwa kkono, ne ngwisa obusaale bwo mu mukono gwo ogwa ddyo. 26EZE039.004 Thou shalt fall upon the mountains of Israel, thou, and all thy bands, and the people that is with thee: I will give thee unto the ravenous birds of every sort, and to the beasts of the field to be devoured. %%% Oligwa ku nsozi za Isiraeri, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez'amaddu ez'engeri zonna n'eri ensolo ez'omu nsiko okuliibwa. 26EZE039.005 Thou shalt fall upon the open field: for I have spoken it, saith the Lord GOD. %%% Oligwa ku ttale mu bbanga: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE039.006 And I will send a fire on Magog, and among them that dwell carelessly in the isles: and they shall know that I am the LORD. %%% Era ndiweereza omuliro ku Magogi, ne ku abo abatuula ku bizinga nga tebaliiko kye batya: kale balimanya nga nze Mukama. 26EZE039.007 So will I make my holy name known in the midst of my people Israel; and I will not let them pollute my holy name any more: and the heathen shall know that I am the LORD, the Holy One in Israel. %%% Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu okulivuma nate: kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri. 26EZE039.008 Behold, it is come, and it is done, saith the Lord GOD; this is the day whereof I have spoken. %%% Laba, kijja, era kirikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda; luno lwe lunaku lwe nnayogerako. 26EZE039.009 And they that dwell in the cities of Israel shall go forth, and shall set on fire and burn the weapons, both the shields and the bucklers, the bows and the arrows, and the handstaves, and the spears, and they shall burn them with fire seven years: %%% N'abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma, ne babissaako omuliro ebyokulwanyisa, engabo era n'obugabo, emitego n'obusaale, n'emiggo egy'omu mukono n'amafumu, balibissizaako omuliro emyaka musanvu: 26EZE039.010 So that they shall take no wood out of the field, neither cut down any out of the forests; for they shall burn the weapons with fire: and they shall spoil those that spoiled them, and rob those that robbed them, saith the Lord GOD. %%% n'okutyaba ne batatyaba nku mu ttale so tebalitema nku zonna mu kibira; kubanga balibissaako omuliro ebyokulwanyisa: era balinyaga abo abaabanyaganga, era balibaggyako abo abaaggyangako, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE039.011 And it shall come to pass in that day, that I will give unto Gog a place there of graves in Israel, the valley of the passengers on the east of the sea: and it shall stop the noses of the passengers: and there shall they bury Gog and all his multitude: and they shall call it The valley of Hamongog. %%% Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abo abayitamu ku luuyi olw'ennyanja olw'ebuvanjuba: era kiriziyiza abo abayitamu: era baliziika eyo Googi n'olufulube lwe lwonna: kale balikiyita nti Kiwonvu Kamonugoogi. 26EZE039.012 And seven months shall the house of Israel be burying of them, that they may cleanse the land. %%% Era ennyumba ya Isiraeri balimala emyezi musanvu nga babaziika, balongoose ensi. 26EZE039.013 Yea, all the people of the land shall bury them; and it shall be to them a renown the day that I shall be glorified, saith the Lord GOD. %%% Weewaawo, abantu bonna ab'omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gye bali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE039.014 And they shall sever out men of continual employment, passing through the land to bury with the passengers those that remain upon the face of the earth, to cleanse it: after the end of seven months shall they search. %%% Era balyawulamu abasajja okuba n'omulimu ogw'olutata, abanaayitanga mu nsi okuziika abo abaliyitamu, abalisigala ku maaso g'ensi, okugirongoosa: emyezi musanvu nga giweddeko balinoonya. 26EZE039.015 And the passengers that pass through the land, when any seeth a man's bone, then shall he set up a sign by it, till the buriers have buried it in the valley of Hamongog. %%% N'abo abayita mu nsi baliyitamu; awo omuntu yenna bw'anaalabanga eggumba ly'omuntu, kale anaasimbangako akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu kiwonvu Kamonugoogi. 26EZE039.016 And also the name of the city shall be Hamonah. Thus shall they cleanse the land. %%% Era walibaawo ekibuga ekiriyitibwa Kamona. Bwe batyo bwe balirongoosa ensi. 26EZE039.017 And, thou son of man, thus saith the Lord GOD; Speak unto every feathered fowl, and to every beast of the field, Assemble yourselves, and come; gather yourselves on every side to my sacrifice that I do sacrifice for you, even a great sacrifice upon the mountains of Israel, that ye may eat flesh, and drink blood. %%% Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Yogera n'ennyonyi ez'engeri zonna na buli nsolo ey'omu nsiko nti Mukuŋŋaane mujje; mukuŋŋaane enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbaweerayo, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama, munywe omusaayi. 26EZE039.018 Ye shall eat the flesh of the mighty, and drink the blood of the princes of the earth, of rams, of lambs, and of goats, of bullocks, all of them fatlings of Bashan. %%% Mulirya ennyama ey'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abalangira ab'ensi, ogw'endiga ennume n'ogw'abaana b'endiga n'ogw'embuzi, n'ogw'ente ennume, zonna za ssava eza Basani. 26EZE039.019 And ye shall eat fat till ye be full, and drink blood till ye be drunken, of my sacrifice which I have sacrificed for you. %%% Era mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira, ku ssaddaaka yange gye mbaweereddeyo. 26EZE039.020 Thus ye shall be filled at my table with horses and chariots, with mighty men, and with all men of war, saith the Lord GOD. %%% Era mulikkutira mu ddiiro lyange embalaasi n'amagaali, abasajja ab'amaanyi n'abasajja bonna abalwanyi, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE039.021 And I will set my glory among the heathen, and all the heathen shall see my judgment that I have executed, and my hand that I have laid upon them. %%% Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba omusango gwange gwe ntuukirizza, n'omukono gwange gwe mbataddeko. 26EZE039.022 So the house of Israel shall know that I am the LORD their God from that day and forward. %%% Kale ennyumba ya Isiraeri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. 26EZE039.023 And the heathen shall know that the house of Israel went into captivity for their iniquity: because they trespassed against me, therefore hid I my face from them, and gave them into the hand of their enemies: so fell they all by the sword. %%% N'amawanga galimanya ng'ennyumba ya Isiraeri baagenda mu busibe olw'obutali butuukirivu bwabwe; kubanga bansobya ne mbakisa amaaso gange: kale ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne bagwa bonna n'ekitala. 26EZE039.024 According to their uncleanness and according to their transgressions have I done unto them, and hid my face from them. %%% Ng'obutali bulongoofu bwabwe bwe bwali era ng'okusobya kwabwe bwe kwali, bwe ntyo bwe nnabakola; ne mbakisa amaaso gange. 26EZE039.025 Therefore thus saith the Lord GOD; Now will I bring again the captivity of Jacob, and have mercy upon the whole house of Israel, and will be jealous for my holy name; %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kaakano nnaakomyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira ennyumba yonna eya Isiraeri; era ndikwatirwa erinnya lyange ettukuvu obuggya. 26EZE039.026 After that they have borne their shame, and all their trespasses whereby they have trespassed against me, when they dwelt safely in their land, and none made them afraid. %%% Era balibaako ensonyi zaabwe n'okusobya kwabwe kwonna kwe bansobya, bwe balituula mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya, so nga tewali alibatiisa; 26EZE039.027 When I have brought them again from the people, and gathered them out of their enemies' lands, and am sanctified in them in the sight of many nations; %%% bwe ndiba nga mbakomezzaawo okubaggya mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez'abalabe baabwe, era nga ntukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga mangi. 26EZE039.028 Then shall they know that I am the LORD their God, which caused them to be led into captivity among the heathen: but I have gathered them unto their own land, and have left none of them any more there. %%% Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe, kubanga nabasindika mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza mu nsi yaabwe bo; so sirireka nate n'omu ku bo okubeera eyo; 26EZE039.029 Neither will I hide my face any more from them: for I have poured out my spirit upon the house of Israel, saith the Lord GOD. %%% so siribakisa nate maaso gange: kubanga nfuse omwoyo gwange ku nnyumba ya Isiraeri; bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE040.001 In the five and twentieth year of our captivity, in the beginning of the year, in the tenth day of the month, in the fourteenth year after that the city was smitten, in the selfsame day the hand of the LORD was upon me, and brought me thither. %%% Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu etaano ogw'okusibibwa kwaffe omwaka nga kye gujje gutanule ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ekibuga nga kimaze okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne guba ku nze, n'antwalayo. 26EZE040.002 In the visions of God brought he me into the land of Israel, and set me upon a very high mountain, by which was as the frame of a city on the south. %%% N'antwala mu nsi ya Isiraeri mu kwolesebwa kwa Katonda, n'anzisa ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali ng'embala y'ekibuga ku bukiika obwa ddyo. 26EZE040.003 And he brought me thither, and, behold, there was a man, whose appearance was like the appearance of brass, with a line of flax in his hand, and a measuring reed; and he stood in the gate. %%% N'antwalayo, kale, laba, nga waliwo omusajja; enfaanana ye ng'enfaanana ey'ekikomo, ng'alina omugwa ogw'obugoogwa mu mukono gwe n'olumuli olugera; n'ayimirira mu mulyango. 26EZE040.004 And the man said unto me, Son of man, behold with thine eyes, and hear with thine ears, and set thine heart upon all that I shall shew thee; for to the intent that I might shew them unto thee art thou brought hither: declare all that thou seest to the house of Israel. %%% Omusajja oyo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu tunula n'amaaso go, owulire n'amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga; kubanga kyovudde oleetebwa wano ndyoke nkubirage: byonna by'onoolaba obibuuliranga ennyumba ya Isiraeri. 26EZE040.005 And behold a wall on the outside of the house round about, and in the man's hand a measuring reed of six cubits long by the cubit and an hand breadth: so he measured the breadth of the building, one reed; and the height, one reed. %%% Awo, laba, ekisenge ebweru w'ennyumba okwetooloola, ne mu mukono gw'omusajja nga mulimu olumuli olugera, obuwanvu bwalwo emikono mukaaga, buli mukono mukono ko oluta: awo n'agera obugazi bw'ennyumba, olumuli lumu; n'obugulumivu olumuli lumu: 26EZE040.006 Then came he unto the gate which looketh toward the east, and went up the stairs thereof, and measured the threshold of the gate, which was one reed broad; and the other threshold of the gate, which was one reed broad. %%% Awo n'ajja eri omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya ku madaala gaagwo; n'agera awayingirirwa ow'omulyango, obugazi bwawo olumuli lumu: n'awayingirirwa awalala, obugazi bwawo olumuli lumu. 26EZE040.007 And every little chamber was one reed long, and one reed broad; and between the little chambers were five cubits; and the threshold of the gate by the porch of the gate within was one reed. %%% Na buli nju obuwanvu bwayo olumuli lumu n'obugazi bwayo olumuli lumu; ne wakati w'amayu emikono etaano; n'awayingirirwa ow'omulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, waaliwo olumuli lumu. 26EZE040.008 He measured also the porch of the gate within, one reed. %%% Era n'agera n'ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, olumuli lumu. 26EZE040.009 Then measured he the porch of the gate, eight cubits; and the posts thereof, two cubits; and the porch of the gate was inward. %%% Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'emifuubeeto gyamu, emikono ebiri; n'ekisasi eky'oku mulyango kyayolekera ennyumba. 26EZE040.010 And the little chambers of the gate eastward were three on this side, and three on that side; they three were of one measure: and the posts had one measure on this side and on that side. %%% N'amayu ag'oku mulyango ebuvanjuba gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; ago gonsatule ga kigera kimu n'emifuubeeto gyalina ekigera kimu eruuyi n'eruuyi 26EZE040.011 And he measured the breadth of the entry of the gate, ten cubits; and the length of the gate, thirteen cubits. %%% Era n'agera awayingirirwa mu mulyango obugazi bwawo, emikono kkumi; n'obuwanvu bw'omulyango emikono kkumi n'esatu; 26EZE040.012 The space also before the little chambers was one cubit on this side, and the space was one cubit on that side: and the little chambers were six cubits on this side, and six cubits on that side. %%% n'ebbanga eryali mu maaso g'amayu, omukono gumu eruuyi, n'ebbanga omukono gumu eruuyi; n'amayu emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi. 26EZE040.013 He measured then the gate from the roof of one little chamber to the roof of another: the breadth was five and twenty cubits, door against door. %%% N'agera omulyango okuva ku nju waggulu okutuuka ku nju ginnaayo waggulu, obugazi emikono amakumi abiri mu etaano; oluggi nga lwolekera oluggi. 26EZE040.014 He made also posts of threescore cubits, even unto the post of the court round about the gate. %%% Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga; n'oluggya lwatuuka ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola. 26EZE040.015 And from the face of the gate of the entrance unto the face of the porch of the inner gate were fifty cubits. %%% N'okuva ku bwenyi bw'omulyango awayingirirwa okutuuka ku bwenyi obw'ekisasi eky'omunda eky'oku mulyango gyali emikono ataano. 26EZE040.016 And there were narrow windows to the little chambers, and to their posts within the gate round about, and likewise to the arches: and windows were round about inward: and upon each post were palm trees. %%% Era amayu gaaliko ebituli ebyazibibwa, n'emifuubeeto gyago egyali munda w'omulyango enjuyi zonna, era n'ebizizi bwe bityo byaliko ebituli: era munda mwalimu ebituli okwetooloola: ne ku buli mufuubeeto kwaliko enkindu. 26EZE040.017 Then brought he me into the outward court, and, lo, there were chambers, and a pavement made for the court round about: thirty chambers were upon the pavement. %%% Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, era, laba, nga waaliwo ebisenge n'amayinja amaaliire, ebyakolerwa oluggya okwetooloola: ebisenge amakumi abiri byali ku mayinja ago amaaliire. 26EZE040.018 And the pavement by the side of the gates over against the length of the gates was the lower pavement. %%% N'amayinja amaaliire gaali ku mabbali g'emiryango, okwenkanankana n'obuwanvu obw'emiryango, ge mayinja amaaliire aga wansi. 26EZE040.019 Then he measured the breadth from the forefront of the lower gate unto the forefront of the inner court without, an hundred cubits eastward and northward. %%% Awo n'agera obugazi okuva ku bwenyi obw'omulyango ogwa wansi okutuuka ku bwenyi obw'oluggya olw'omunda ebweru, emikono kikumi, ebuvanjuba n'obukiika obwa kkono: 26EZE040.020 And the gate of the outward court that looked toward the north, he measured the length thereof, and the breadth thereof. %%% N'omulyango ogw'oluggya olw'ebweru ogutunuulira obukiika obwa kkono n'agera obuwanvu bwagwo n'obugazi bwagwo: 26EZE040.021 And the little chambers thereof were three on this side and three on that side; and the posts thereof and the arches thereof were after the measure of the first gate: the length thereof was fifty cubits, and the breadth five and twenty cubits. %%% N'amayu gaako gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; n'emifuubeeto gyako n'ebizizi byako byali ng'ekigera eky'omulyango ogw'olubereberye: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano. 26EZE040.022 And their windows, and their arches, and their palm trees, were after the measure of the gate that looketh toward the east; and they went up unto it by seven steps; and the arches thereof were before them. %%% N'ebituli byagwo n'ebizizi byagwo n'enkindu zaagwo, byali ng'ekigera eky'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba; era baagulinnyirangamu ku madaala musanvu; n'ebizizi byagwo byali nu maaso gaago. 26EZE040.023 And the gate of the inner court was over against the gate toward the north, and toward the east; and he measured from gate to gate an hundred cubits. %%% Era oluggya olw'omunda lwaliko omulyango ogwolekera omulyango omulala, obukiika obwa kkono era n'ebuvanjuba; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi. 26EZE040.024 After that he brought me toward the south, and behold a gate toward the south: and he measured the posts thereof and the arches thereof according to these measures. %%% Awo n'antwala obukiika obwa ddyo, kale, laba, omulyango obukiika obwa ddyo: n'agera emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe biri. 26EZE040.025 And there were windows in it and in the arches thereof round about, like those windows: the length was fifty cubits, and the breadth five and twenty cubits. %%% Era kwaliko amadirisa ku gwo ne ku bizizi byagwo enjuyi zonna ebifaanana amadirisa ago: obuwanvu emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano. 26EZE040.026 And there were seven steps to go up to it, and the arches thereof were before them: and it had palm trees, one on this side, and another on that side, upon the posts thereof. %%% Era waaliwo amadaala musanvu kwe baalinnyiranga, n'ebizizi byagwo byali mu maaso gaago: era gwaliko enkindu, olumu eruuyi n'olumu eruuyi ku mifuubeeto gyagwo. 26EZE040.027 And there was a gate in the inner court toward the south: and he measured from gate to gate toward the south an hundred cubits. %%% Era oluggya olw'omunda lwalina omulyango ogwolekera obukiika obwa ddyo: n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiika obwa ddyo emikono kikumi. 26EZE040.028 And he brought me to the inner court by the south gate: and he measured the south gate according to these measures; %%% Awo n'antwala mu luggya olw'omunda oluliraanye omulyango ogw'obukiika obwa ddyo ng'ebigera ebyo bwe byali; 26EZE040.029 And the little chambers thereof, and the posts thereof, and the arches thereof, according to these measures: and there were windows in it and in the arches thereof round about: it was fifty cubits long, and five and twenty cubits broad. %%% n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli era n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano. 26EZE040.030 And the arches round about were five and twenty cubits long, and five cubits broad. %%% Era waaliwo ebizizi enjuyi zonna obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri mu etaano n'obugazi bwabyo emikono etaano. 26EZE040.031 And the arches thereof were toward the utter court; and palm trees were upon the posts thereof: and the going up to it had eight steps. %%% N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyali enkindu; n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana. 26EZE040.032 And he brought me into the inner court toward the east: and he measured the gate according to these measures. %%% N'antwala mu luggya olw'omunda okwolekera obuvanjuba: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byali; 26EZE040.033 And the little chambers thereof, and the posts thereof, and the arches thereof, were according to these measures: and there were windows therein and in the arches thereof round about: it was fifty cubits long, and five and twenty cubits broad. %%% n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli, n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano. 26EZE040.034 And the arches thereof were toward the outward court; and palm trees were upon the posts thereof, on this side, and on that side: and the going up to it had eight steps. %%% N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyaliko enkindu, eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana. 26EZE040.035 And he brought me to the north gate, and measured it according to these measures; %%% N'antwala ku mulyango ogw'obukiika obwa kkono: n'agugera ng'ebigera ebyo bwe byali; 26EZE040.036 The little chambers thereof, the posts thereof, and the arches thereof, and the windows to it round about: the length was fifty cubits, and the breadth five and twenty cubits. %%% amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo; era gwaliko amadirisa enjuyi zonna: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano. 26EZE040.037 And the posts thereof were toward the utter court; and palm trees were upon the posts thereof, on this side, and on that side: and the going up to it had eight steps. %%% N'emifuubeeto gyagwo gyayolekera oluggya olw'ebweru; era emifubeeto gyagwo gyaliko enkindu eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana. 26EZE040.038 And the chambers and the entries thereof were by the posts of the gates, where they washed the burnt offering. %%% Era n'enju n'oluggi lwayo yali eriraanye ku mifuubeeto ku miryango; eyo gye baanaalizanga ekiweebwayo ekyokebwa. 26EZE040.039 And in the porch of the gate were two tables on this side, and two tables on that side, to slay thereon the burnt offering and the sin offering and the trespass offering. %%% Ne mu kisasi eky'oku mulyango mwalimu emmeeza bbiri eruuyi n'emmeeza bbiri eruuyi okuttirangako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango. 26EZE040.040 And at the side without, as one goeth up to the entry of the north gate, were two tables; and on the other side, which was at the porch of the gate, were two tables. %%% Era ku luuyi ebweru ng'olinnya awayingirirwa mu mulyango okwolekera obukiika obwa kkono yaliyo emmeeza bbiri: ne ku luuyi olw'okubiri, lwe lw'ekisasi eky'oku mulyango, yaiiyo emmeeza bbiri. 26EZE040.041 Four tables were on this side, and four tables on that side, by the side of the gate; eight tables, whereupon they slew their sacrifices. %%% Waaliwo emmeeza nnya eruuyi n'emmeeza nnya eruuyi okuliraana omulyango; emmeeza munaana kwe battiranga ssaddaaka. 26EZE040.042 And the four tables were of hewn stone for the burnt offering, of a cubit and an half long, and a cubit and an half broad, and one cubit high: whereupon also they laid the instruments wherewith they slew the burnt offering and the sacrifice. %%% Era waaliwo emmeeza nnya ez'ekiweebwayo ekyokebwa, ez'amayinja amateme, obuwanvu bwazo omukono ko ekitundu, n'obugazi bwazo omukono ko ekitundu, n'obugulumivu bwazo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bassanga ekiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka: 26EZE040.043 And within were hooks, an hand broad, fastened round about: and upon the tables was the flesh of the offering. %%% N'ebikwaso, obuwanvu bwabyo luta, byasibibwa munda enjuyi zonna; ne ku mmeeza kwaliko ennyama ey'ekitone. 26EZE040.044 And without the inner gate were the chambers of the singers in the inner court, which was at the side of the north gate; and their prospect was toward the south: one at the side of the east gate having the prospect toward the north. %%% Era ebweru w'oluggya olw'omunda waaliwo enju ez'abayimbi mu luggya olw'omunda olwali ku mabbali g'omulyango ogw'obukiika obwa kkono: era zaatunuulira obukiika obwa ddyo: nga waaliwo emu ku mabbali g'omulyango ogw'obuvanjuba etunuulira obukiika obwa kkono. 26EZE040.045 And he said unto me, This chamber, whose prospect is toward the south, is for the priests, the keepers of the charge of the house. %%% Awo n'aŋŋamba nti Enju eno etunuulira obukiika obwa ddyo ya bakabona abakuumi b’ennyumba gye balagirwa. 26EZE040.046 And the chamber whose prospect is toward the north is for the priests, the keepers of the charge of the altar: these are the sons of Zadok among the sons of Levi, which come near to the LORD to minister unto him. %%% N'enju etunuulira obukiika obwa kkono ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagirwa: abo be batabani ba Zadoki, be b'oku batabani ba Leevi abasemberera Mukama okumuweereza. 26EZE040.047 So he measured the court, an hundred cubits long, and an hundred cubits broad, foursquare; and the altar that was before the house. %%% N'agera oluggya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi n'obugazi bwalwo emikono kikumi okwenkanankana; n'ekyoto kyali mu maaso g'ennyumba. 26EZE040.048 And he brought me to the porch of the house, and measured each post of the porch, five cubits on this side, and five cubits on that side: and the breadth of the gate was three cubits on this side, and three cubits on that side. %%% Awo n'antwala ku kisasi eky'ennyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'ekisasi emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi: n'obugazi obw'omulyango bwali emikono esatu eruuyi n'emikono esatu eruuyi. 26EZE040.049 The length of the porch was twenty cubits, and the breadth eleven cubits; and he brought me by the steps whereby they went up to it: and there were pillars by the posts, one on this side, and another on that side. %%% Obuwanvu bw'ekisasi bwali emikono amakumi abiri n'obugazi emikono kkumi na gumu: ng'ogera awali amadaala ge baalinnyirangako omwo: era waaliwo empagi eziriraanye emifubeeto, emu eruuyi n'emu eruuyi. 26EZE041.001 Afterward he brought me to the temple, and measured the posts, six cubits broad on the one side, and six cubits broad on the other side, which was the breadth of the tabernacle. %%% N'antwala ku yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi, bwe bwali obugazi bw'eweema. 26EZE041.002 And the breadth of the door was ten cubits; and the sides of the door were five cubits on the one side, and five cubits on the other side: and he measured the length thereof, forty cubits: and the breadth, twenty cubits. %%% N'awayingirirwa obugazi bwawo emikono kkumi; n'awayingirirwa embiriizi zaawo zaali emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi: n'agera obuwanvu bwawo emikono amakumi ana n'obugazi emikono amakumi abiri. 26EZE041.003 Then went he inward, and measured the post of the door, two cubits; and the door, six cubits; and the breadth of the door, seven cubits. %%% Awo n'agenda munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri: n'awayingirirwa emikono mukaaga: n'awayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu. 26EZE041.004 So he measured the length thereof, twenty cubits; and the breadth, twenty cubits, before the temple: and he said unto me, This is the most holy place. %%% N'agera obuwanvu bwawo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwawo emikono amakumi abiri, mu maaso ga yeekaalu: n'aŋŋamba nti Kino kye kifo ekitukuvu ennyo. 26EZE041.005 After he measured the wall of the house, six cubits; and the breadth of every side chamber, four cubits, round about the house on every side. %%% Awo n'agera ekisenge eky'ennyumba emikono mukaaga; na buli nju ey'omu mbiriizi obugazi bwayo emikono ena, okwetooloola ennyumba enjuyi zonna. 26EZE041.006 And the side chambers were three, one over another, and thirty in order; and they entered into the wall which was of the house for the side chambers round about, that they might have hold, but they had not hold in the wall of the house. %%% N'amayu ag'omu mbiriizi gaali asatu, enju ng'eri waggulu ku nju ginnaayo, era amakumi asatu nnyiriri nnyiriri; era gaayingira mu kisenge eky'ennyumba eyali ey'amayu ag'omu mbiriizi enjuyi zonna, gakwate omwo, so galeme okukwata mu bisenge eby'ennyumba. 26EZE041.007 And there was an enlarging, and a winding about still upward to the side chambers: for the winding about of the house went still upward round about the house: therefore the breadth of the house was still upward, and so increased from the lowest chamber to the highest by the midst. %%% N'amayu ag'omu mbiriizi gaagenda nga geeyongera okugaziwa nga gagenda nga geeyongera waggulu okwetooloola ennyumba; kubanga okwetooloola ennyumba kwagenda nga kweyongera waggulu okwebungulula ennyumba: obugazi bw'ennyumba kyebwava bweyongera waggulu; bwe batyo baalinnyanga okuva mu nju eya wansi okutuuka mu nju eya waggulu nga bayita mu nju eya wakati. 26EZE041.008 I saw also the height of the house round about: the foundations of the side chambers were a full reed of six great cubits. %%% Era ne ndaba ng'ennyumba yali ku kigulumu enjuyi zonna: emisingi egy'amayu ag'omu mbiriizi gyali olumuli olulamba olw'emikono emiwanvu mukaaga. 26EZE041.009 The thickness of the wall, which was for the side chamber without, was five cubits: and that which was left was the place of the side chambers that were within. %%% Obugazi bw'ekisenge ekyali eky'amayu ag'omu mbiriizi ebweru bwali emikono etaano: n'ebbanga eryafikkawo lyali kifo eky'amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba. 26EZE041.010 And between the chambers was the wideness of twenty cubits round about the house on every side. %%% Era wakati w'amayu waaliwo obugazi obw'emikono amakumi abiri okwetooloola ennyumba enjuyi zonna: 26EZE041.011 And the doors of the side chambers were toward the place that was left, one door toward the north, and another door toward the south: and the breadth of the place that was left was five cubits round about. %%% N'enzigi ez'oku mayu ag'omu mbiriizi zaayolekera ekifo ekyafikkawo, oluggi olumu nga lwolekera obukiika obwa kkono n'oluggi olulala nga lwolekera obukiika obwa ddyo: n'ekifo ekyafikkawo obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna. 26EZE041.012 Now the building that was before the separate place at the end toward the west was seventy cubits broad; and the wall of the building was five cubits thick round about, and the length thereof ninety cubits. %%% N'ennyumba eyali mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ku luuyi olw'ebugwanjuba obugazi bwayo bwali emikono nsanvu; n'ekisenge ky'ennyumba obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo emikono kyenda. 26EZE041.013 So he measured the house, an hundred cubits long; and the separate place, and the building, with the walls thereof, an hundred cubits long; %%% Awo bw'atyo n'agera ennyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi; n'ekifo ekyayawulibwa n'ennyumba n'ebisenge byayo, obuwanvu bwakyo emikono kikumi. 26EZE041.014 Also the breadth of the face of the house, and of the separate place toward the east, an hundred cubits. %%% Era obwenyi bw'ennyumba obugazi bwabwo n'obw'ekifo ekyayawulibwa okwolekera obuvanjuba, emikono kikumi. 26EZE041.015 And he measured the length of the building over against the separate place which was behind it, and the galleries thereof on the one side and on the other side, an hundred cubits, with the inner temple, and the porches of the court; %%% N'agera ennyumba obuwanvu bwayo okuva ku kifo ekyayawulibwa ekyali emmanju waayo n'ebbalaza zaayo eruuyi n'eruuyi, emikono kikumi; ne yeekaalu ey'omunda n'ebisasi eby'omu luggya; 26EZE041.016 The door posts, and the narrow windows, and the galleries round about on their three stories, over against the door, cieled with wood round about, and from the ground up to the windows, and the windows were covered; %%% emiryango n'amadirisa agaazibibwa n'ebbalaza enjuyi zonna, bbalaza ssatu buli bbalaza ng'eri ku bbalaza ginnaayo, okwolekera omulyango, ezaabikkibwako emiti enjuyi zonna n'okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa; era amadirisa gaabikkibwako; 26EZE041.017 To that above the door, even unto the inner house, and without, and by all the wall round about within and without, by measure. %%% n'okutuuka ku bbanga eryali waggulu w'oluggi, okutuuka ku nnyumba ey'omunda n'ebweru ne ku kisenge kyonna enjuyi zonna munda n'ebweru, okugerebwa kwabyo. 26EZE041.018 And it was made with cherubims and palm trees, so that a palm tree was between a cherub and a cherub; and every cherub had two faces; %%% Era yakolebwa ne bakerubi n'enkindu; n'olukindu lwateekebwa wakati wa bakerubi kinnababirye, na buli kerubi yalina obwenyi bubiri; 26EZE041.019 So that the face of a man was toward the palm tree on the one side, and the face of a young lion toward the palm tree on the other side: it was made through all the house round about. %%% obwenyi bw'omuntu ne bwolekera olukindu eruuyi, n'obwenyi bw'empologoma ento ne bwolekera olukindu eruuyi: bwe bityo bwe byakolebwa okubuna ennyumba yonna enjuyi zonna. 26EZE041.020 From the ground unto above the door were cherubims and palm trees made, and on the wall of the temple. %%% Bakerubi n'enkindu byakolebwa okuva ku ttaka okutuuka waggulu w'oluggi ekisenge kya yeekaalu bwe kyali bwe kityo. 26EZE041.021 The posts of the temple were squared, and the face of the sanctuary; the appearance of the one as the appearance of the other. %%% Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyaliko empe nnya n'obwenyi bw'awatukuvu enfaanana yaabwo yali ng'enfaanana eya yeekaalu. 26EZE041.022 The altar of wood was three cubits high, and the length thereof two cubits; and the corners thereof, and the length thereof, and the walls thereof, were of wood: and he said unto me, This is the table that is before the LORD. %%% Ekyoto kyali kya miti obugulumivu bwakyo emikono esatu n'obuwanvu bwakyo emikono ebiri n'ensonda zaakyo n'obuwanvu bwakyo n'ebisenge byakyo byali bya miti: n'aŋŋamba nti Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Mukama. 26EZE041.023 And the temple and the sanctuary had two doors. %%% Eri yeekaalu n'awatukuvu byalina enzigi bbiri. 26EZE041.024 And the doors had two leaves apiece, two turning leaves; two leaves for the one door, and two leaves for the other door. %%% N'enzigi zaali za mbaawo bbiri, embaawo bbiri ezeefunya embaawo bbiri za luggi lumu, n'embaawo bbiri za luggi olw'oku biri. 26EZE041.025 And there were made on them, on the doors of the temple, cherubims and palm trees, like as were made upon the walls; and there were thick planks upon the face of the porch without. %%% Era kwakolebwako, ku nzigi za yeekaalu, bakerubi n'enkindu ng'ebyakolebwa ku bisenge; era ku bwenyi bw'ekisasi ebweru kwaliko embaawo ez'emiti ez'omubiri omunene. 26EZE041.026 And there were narrow windows and palm trees on the one side and on the other side, on the sides of the porch, and upon the side chambers of the house, and thick planks. %%% Era waaliwo amadirisa agaazibibwa n'enkindu eruuyi n'eruuyi ku njuyi z'ekisasi: amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba bwe gaali bwe gatyo n'embaawo ez'o mubiri omunene. 26EZE042.001 Then he brought me forth into the utter court, the way toward the north: and he brought me into the chamber that was over against the separate place, and which was before the building toward the north. %%% Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, lye kkubo eridda obukiika obwa kkono: n'annyingiza mu nju eyayolekera ekifo ekyayawulibwa era eyayolekera ennyumba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono. 26EZE042.002 Before the length of an hundred cubits was the north door, and the breadth was fifty cubits. %%% Mu maaso g'obuwanvu buli obw'emikono ekikumi we waali oluggi olw'obukiika obwa kkono, n'obugazi bwali emikono amakumi ataano. 26EZE042.003 Over against the twenty cubits which were for the inner court, and over against the pavement which was for the utter court, was gallery against gallery in three stories. %%% Okwolekera emikono abiri giri egy'oluggya olw'omunda n'okwolekera amayinja amaaliire gali ag'omu luggya olw'ebweru we waali ebbalaza ng'eyolekera ebbalaza ginnaayo mu nju eya waggulu ey'okusatu. 26EZE042.004 And before the chambers was a walk of ten cubits breadth inward, a way of one cubit; and their doors toward the north. %%% Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikono kkumi munda, ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiika obwa kkono. 26EZE042.005 Now the upper chambers were shorter: for the galleries were higher than these, than the lower, and than the middlemost of the building. %%% Era amayuuga waggulu gaali mampi okusinga ago: kubanga ebbalaza zaasala ku ago okusinga bwe zaasala ku za wansi n'eza wakati mu nnyumba. 26EZE042.006 For they were in three stories, but had not pillars as the pillars of the courts: therefore the building was straitened more than the lowest and the middlemost from the ground. %%% Kubanga gaali amayu aga waggulu asatu, so tegaalina mpagi ng'empagi ez'omu mpya: eya waggulu kyeyava efunzibwa okusinga eya wansi n'eya wakati okuva ku ttaka. 26EZE042.007 And the wall that was without over against the chambers, toward the utter court on the forepart of the chambers, the length thereof was fifty cubits. %%% N'ekisenge ekyali ebweru ekyaliraana amayu okwolekera oluggya olw'ebweru mu maaso g'amayu obuwavu bwakyo bwali emikono amakumi ataano. 26EZE042.008 For the length of the chambers that were in the utter court was fifty cubits: and, lo, before the temple were an hundred cubits. %%% Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya lw'ebweru bwali emikono amakumi ataano: era, laba, mu maaso ga yeekaalu waaliwo emikono kikumi. 26EZE042.009 And from under these chambers was the entry on the east side, as one goeth into them from the utter court. %%% Era wansi w'amayu ago we baavanga okuyingira ku luuyi olw'ebuvanjuba, ng'oyingira mu go ng'oa mu luggya olw'ebweru. 26EZE042.010 The chambers were in the thickness of the wall of the court toward the east, over against the separate place, and over against the building. %%% Ku mubiri gw'ekisenge eky'oluggya kwolekera obuvanjuba, mu maaso g’ekifo ekyayawulibwa ne mu maaso n'ennyumba, kwaliko amayu. 26EZE042.011 And the way before them was like the appearance of the chambers which were toward the north, as long as they, and as broad as they: and all their goings out were both according to their fashions, and according to their doors. %%% N'ekkubo eryali mu maaso gaago yali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'amayu agayolekera obukiika obwa kkono; ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo: n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'ezigi zaago bwe zaali. 26EZE042.012 And according to the doors of the chambers that were toward the south was a door in the head of the way, even the way directly before the wall toward the east, as one entereth into them. %%% Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obukiika obwa ddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go. 26EZE042.013 Then said he unto me, The north chambers and the south chambers, which are before the separate place, they be holy chambers, where the priests that approach unto the LORD shall eat the most holy things: there shall they lay the most holy things, and the meat offering, and the sin offering, and the trespass offering; for the place is holy. %%% Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiika obwa kkono n'amayu ag'obukiika obwa ddyo goolekedde ekifo ekyayawulibwa ago ge mayu amatukuvu, bakabona abali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo: eyo gye banaateekanga ebintu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwao eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ebibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu. 26EZE042.014 When the priests enter therein, then shall they not go out of the holy place into the utter court, but there they shall lay their garments wherein they minister; for they are holy; and shall put on other garments, and shall approach to those things which are for the people. %%% Bakabona bwe banaayingirangamu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'ebweru, naye banaateekanga eyo ebyambalo byabwe bye baweereezaamu; kubanga bitukuvu; kale anaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu. 26EZE042.015 Now when he had made an end of measuring the inner house, he brought me forth toward the gate whose prospect is toward the east, and measured it round about. %%% Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna. 26EZE042.016 He measured the east side with the measuring reed, five hundred reeds, with the measuring reed round about. %%% N'agera ku luuyi olw'ebuvanjuba n'olumuli olwo olugera, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera enjuyi zonna. 26EZE042.017 He measured the north side, five hundred reeds, with the measuring reed round about. %%% N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'olumuli olugera, emmuli ebikumi bitaano enjuyi zonna. 26EZE042.018 He measured the south side, five hundred reeds, with the measuring reed. %%% N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera. 26EZE042.019 He turned about to the west side, and measured five hundred reeds with the measuring reed. %%% N'akyukira eri oluuyi olw'ebugwanjuba n'agera emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera. 26EZE042.020 He measured it by the four sides: it had a wall round about, five hundred reeds long, and five hundred broad, to make a separation between the sanctuary and the profane place. %%% Yagigera enjuyi ennya: yalina bbugwe enjuyi zonna, obuwanvu ebikumi bitaano n'obugazi ebikumi bitaano, okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu. 26EZE043.001 Afterward he brought me to the gate, even the gate that looketh toward the east: %%% Awo oluvannyuma n'antwala eri omulyango, omulyango ogwo ogutunuulira obuvanjuba: 26EZE043.002 And, behold, the glory of the God of Israel came from the way of the east: and his voice was like a noise of many waters: and the earth shined with his glory. %%% kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery'ebuvanjuba: n'eddoboozi lye lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi: ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye. 26EZE043.003 And it was according to the appearance of the vision which I saw, even according to the vision that I saw when I came to destroy the city: and the visions were like the vision that I saw by the river Chebar; and I fell upon my face. %%% Era kyali ng'embala ey'okwolesebwa kwe nnalaba, ng'okwolesebwa kwe nnalaba bwe nnajja okuzikiriza ekibuga: era okwolesebwa kwali ng'okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali: awo ne nvuunama amaaso gange. 26EZE043.004 And the glory of the LORD came into the house by the way of the gate whose prospect is toward the east. %%% Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu nnyumba nga kifuluma mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba. 26EZE043.005 So the spirit took me up, and brought me into the inner court; and, behold, the glory of the LORD filled the house. %%% Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw'omunda; kale, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba. 26EZE043.006 And I heard him speaking unto me out of the house; and the man stood by me. %%% Awo ne mpulira ayogera nange ng'ayima mu nnyumba; omusajja n'ayimirira ku mabbali gange. 26EZE043.007 And he said unto me, Son of man, the place of my throne, and the place of the soles of my feet, where I will dwell in the midst of the children of Israel for ever, and my holy name, shall the house of Israel no more defile, neither they, nor their kings, by their whoredom, nor by the carcases of their kings in their high places. 26EZE043.007 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, kino kye kifo eky'entebe yange, n'ekifo ebigere byange we birinnya, we nnaabeeranga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonna: so n'ennyumba ya Isiraeri terigwagwawaza nate erinnya lyange ettukuvu, bo newakubadde kabaka waabwe, olw'obwenzi bwabwe n'olw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu; 26EZE043.008 In their setting of their threshold by my thresholds, and their post by my posts, and the wall between me and them, they have even defiled my holy name by their abominations that they have committed: wherefore I have consumed them in mine anger. %%% nga bateeka omulyango gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange, n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere n'ekyawula nze nabo; era bagwagwawazizza erinnya lyange ettukuvu n'emizizo gyabwe gye bakola: kyennava mbamalawo n'obusungu bwange. 26EZE043.009 Now let them put away their whoredom, and the carcases of their kings, far from me, and I will dwell in the midst of them for ever. %%% Kaakano baggyeewo obwenzi bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe okuba wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna. 26EZE043.010 Thou son of man, shew the house to the house of Israel, that they may be ashamed of their iniquities: and let them measure the pattern. %%% Ggwe omwana w'omuntu, laga ennyumba ya Isiraeri ennyumba, bakwatirwe ensonyi obutali butuukirivu bwabwe: era bagere ekyokulabirako. 26EZE043.011 And if they be ashamed of all that they have done, shew them the form of the house, and the fashion thereof, and the goings out thereof, and the comings in thereof, and all the forms thereof, and all the ordinances thereof, and all the forms thereof, and all the laws thereof: and write it in their sight, that they may keep the whole form thereof, and all the ordinances thereof, and do them. %%% Awo bwe banaakwatirwa ensonyi ebyo byonna bye bakoze, bategeeze ennyumba bw'efaanana n'engeri yaayo n'awafulumirwa n'awayingirirwa n'embala zaayo zonna n'ebiragiro byayo byonna n'embala zaayo zonna n'amateeka gaayo gonna, ogiwandiike bo nga balaba: balyoke bagikwate yonna: nga bw'efaanana n'ebiragiro byayo byonna, babikolenga. 26EZE043.012 This is the law of the house; Upon the top of the mountain the whole limit thereof round about shall be most holy. Behold, this is the law of the house. %%% Lino lye tteeka ery'ennyumba: ku ntikko y'olusozi embibi yaayo yonna enjuyi zonna eriba ntukuvu nnyo. Laba, eryo lye tteeka ery'ennyumba. 26EZE043.013 And these are the measures of the altar after the cubits: The cubit is a cubit and an hand breadth; even the bottom shall be a cubit, and the breadth a cubit, and the border thereof by the edge thereof round about shall be a span: and this shall be the higher place of the altar. %%% Era kuno kwe kugerebwa kw'ekyoto ng'emikono bwe gyenkana: (omukono gwe mukono ko oluta:) entobo eriba ya mukono gumu, n'obugazi mukono gumu, n'omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa luta: era eyo ye eneeba entobo y'ekyoto. 26EZE043.014 And from the bottom upon the ground even to the lower settle shall be two cubits, and the breadth one cubit; and from the lesser settle even to the greater settle shall be four cubits, and the breadth one cubit. %%% N'okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi waliba emikono ebiri n'obugazi omukono gumu; n'okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene waliba emikono ena n'obugazi omukono gumu. 26EZE043.015 So the altar shall be four cubits; and from the altar and upward shall be four horns. %%% N'ekyoto ekya waggulu kiriba kya mikono ena: n'okuva ku kyoto wansi n'okwambukayo waliba amayembe ana. 26EZE043.016 And the altar shall be twelve cubits long, twelve broad, square in the four squares thereof. %%% N'ekyoto wansi kiriba emikono kkumi n'ebiri obuwanvu n'ekkumi n'ebiri obugazi, enjuyi zaakyo ennya nga zenkanankana. 26EZE043.017 And the settle shall be fourteen cubits long and fourteen broad in the four squares thereof; and the border about it shall be half a cubit; and the bottom thereof shall be a cubit about; and his stairs shall look toward the east. %%% N'omugo guliba emikono kkumi n'ena obuwanvu n'ekkumi n'ena obugazi, mu njuyi zaagwo ennya; n'omugo ogugwetooloola guliba kitundu kya mukono; n'entobo yaagwo eriba omukono gumu enjuyi zonna; n'amadaala gaagwo galitunuulira obuvanjuba. 26EZE043.018 And he said unto me, Son of man, thus saith the Lord GOD; These are the ordinances of the altar in the day when they shall make it, to offer burnt offerings thereon, and to sprinkle blood thereon. %%% N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bino bye biragiro eby'ekyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo, okwo ebiweebwayo ebyokebwa n'okumansirangako omusaayi. 26EZE043.019 And thou shalt give to the priests the Levites that be of the seed of Zadok, which approach unto me, to minister unto me, saith the Lord GOD, a young bullock for a sin offering. %%% Bakabona, Abaleevi ab'oku zzadde lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente enwbuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okumpeereza, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE043.020 And thou shalt take of the blood thereof, and put it on the four horns of it, and on the four corners of the settle, and upon the border round about: thus shalt thou cleanse and purge it. %%% Era olitoola ku musaayi gwayo n'oguteeka ku mayembe gaakyo ana ne ku nsonda ennya ez'omugo ne ku mugo ogwetooloola; bw'otyo bw'onookirongoosanga n'okitangirira. 26EZE043.021 Thou shalt take the bullock also of the sin offering, and he shall burn it in the appointed place of the house, without the sanctuary. %%% Era otwalanga ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agyokera mu kifo eky'ennyumba ekyalagirwa ebweru w'awatukuvu. 26EZE043.022 And on the second day thou shalt offer a kid of the goats without blemish for a sin offering; and they shall cleanse the altar, as they did cleanse it with the bullock. %%% Awo ku lunaku olw'okubiri n'owangayo embuzi ennume eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ne balongoosa ekyoto nga bwe bakirongoosa n'ente. 26EZE043.023 When thou hast made an end of cleansing it, thou shalt offer a young bullock without blemish, and a ram out of the flock without blemish. %%% Bw'olimala okukirongoosa, owangayo ente envubuka eteriiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo. 26EZE043.024 And thou shalt offer them before the LORD, and the priests shall cast salt upon them, and they shall offer them up for a burnt offering unto the LORD. %%% N'obisembeza mu maaso ga Mukama, bakabona ne babisuulako omunnyo ne babiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 26EZE043.025 Seven days shalt thou prepare every day a goat for a sin offering: they shall also prepare a young bullock, and a ram out of the flock, without blemish. %%% Mu nnaku omusanvu onootegekerangamu buli lunaku embuzi okuba ekiweebwayo olw'ekibi era bategekenga ente envubuka n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo. 26EZE043.026 Seven days shall they purge the altar and purify it; and they shall consecrate themselves. %%% Ennaku musanvu batangirirenga ekyoto bakirongoose; bwe batyo bwe baba bakyawula: 26EZE043.027 And when these days are expired, it shall be, that upon the eighth day, and so forward, the priests shall make your burnt offerings upon the altar, and your peace offerings; and I will accept you, saith the Lord GOD. %%% Awo bwe balimala ennaku ezo, olulituuka ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe olw'emirembe; nange ndibakkiriza, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE044.001 Then he brought me back the way of the gate of the outward sanctuary which looketh toward the east; and it was shut. %%% Awo n'anzizaayo mu kkubo ery'omulyango ogw'ebweru ogw'awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; awo nga luggale. 26EZE044.002 Then said the LORD unto me; This gate shall be shut, it shall not be opened, and no man shall enter in by it; because the LORD, the God of Israel, hath entered in by it, therefore it shall be shut. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omulyango guno guliggalwawo, teguliggulwawo so tewaliba muntu aliyingirira mu gwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiridde omwo; kye gunaavanga guggalwawo. 26EZE044.003 It is for the prince; the prince, he shall sit in it to eat bread before the LORD; he shall enter by the way of the porch of that gate, and shall go out by the way of the same. %%% Omulangira ye alituula omwo nga ye mulangira okuliiranga emmere mu maaso ga Mukama; aliyingira ng’afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo omwo mw'anaayitanga ng'avaamu. 26EZE044.004 Then brought he me the way of the north gate before the house: and I looked, and, behold, the glory of the LORD filled the house of the LORD: and I fell upon my face. %%% Awo n'antwala mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono mu maaso g'ennyumba; ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde ermyumba ya Mukama; ne nvuunama amaaso gange; 26EZE044.005 And the LORD said unto me, Son of man, mark well, and behold with thine eyes, and hear with thine ears all that I say unto thee concerning all the ordinances of the house of the LORD, and all the laws thereof; and mark well the entering in of the house, with every going forth of the sanctuary. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, weetegereze nnyo, otunule n'amaaso go era owulire n'amatu go ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu nnyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu. 26EZE044.006 And thou shalt say to the rebellious, even to the house of Israel, Thus saith the Lord GOD; O ye house of Israel, let it suffice you of all your abominations, %%% Era ogambanga abajeemu, ogambanga ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, emizizo gyammwe gyonna gibamale, 26EZE044.007 In that ye have brought into my sanctuary strangers, uncircumcised in heart, and uncircumcised in flesh, to be in my sanctuary, to pollute it, even my house, when ye offer my bread, the fat and the blood, and they have broken my covenant because of all your abominations. %%% kubanga muyingizizza bannaggwanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n'omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna. 26EZE044.008 And ye have not kept the charge of mine holy things: but ye have set keepers of my charge in my sanctuary for yourselves. %%% So temukuumye bintu byange ebitukuvu bye mwalagirwa: naye mweteekeddewo mwekka abakuumi b'ebyo bye nnalagira mu watukuvu wange. 26EZE044.009 Thus saith the Lord GOD; No stranger, uncircumcised in heart, nor uncircumcised in flesh, shall enter into my sanctuary, of any stranger that is among the children of Israel. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba munnaggwanga, atali mukomole mu mutima era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munnaggwanga yenna anaabanga mu baana ba Isiraeri. 26EZE044.010 And the Levites that are gone away far from me, when Israel went astray, which went astray away from me after their idols; they shall even bear their iniquity. %%% Naye Abaleevi abanneesambira ddala, Isiraeri bwe yawaba, abaawaba okunvaako okugoberera ebifaananyi byabwe; abo balibaako obutali butuukirivu bwabwe. 26EZE044.011 Yet they shall be ministers in my sanctuary, having charge at the gates of the house, and ministering to the house: they shall slay the burnt offering and the sacrifice for the people, and they shall stand before them to minister unto them. %%% Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy'ennyumba, era nga baweerereza mu nnyumba; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, eta banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza. 26EZE044.012 Because they ministered unto them before their idols, and caused the house of Israel to fall into iniquity; therefore have I lifted up mine hand against them, saith the Lord GOD, and they shall bear their iniquity. %%% Kubanga baabaweererezanga mu maaso g'ebifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey'obutali butuukirivu eri ennyumba ya Isiraeri; kyenvudde mbayimusizaako omukono gwange, bw'ayogera Mukama Katonda, era balibaako obutali butuukirivu bwabwe. 26EZE044.013 And they shall not come near unto me, to do the office of a priest unto me, nor to come near to any of my holy things, in the most holy place: but they shall bear their shame, and their abominations which they have committed. %%% So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona gye ndi, newakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu: naye balibaako ensonyi zaabwe n'emizizo gyabwe gye baakolanga. 26EZE044.014 But I will make them keepers of the charge of the house, for all the service thereof, and for all that shall be done therein. %%% Era naye ndibafuula abakuumi b'ennyumba gye baliragirwa, olw'okuweereza kwamu kwonna n'olwa byonna ebirikolebwa omwo. 26EZE044.015 But the priests the Levites, the sons of Zadok, that kept the charge of my sanctuary when the children of Israel went astray from me, they shall come near to me to minister unto me, and they shall stand before me to offer unto me the fat and the blood, saith the Lord GOD: %%% Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagirwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'omusaayi, bw'ayogera Mukama Katonda: 26EZE044.016 They shall enter into my sanctuary, and they shall come near to my table, to minister unto me, and they shall keep my charge. %%% abo banaayingiranga mu watukuvu wange, era banaasembereranga emmeeza yange okumpeereza, era banaakuumanga ebyo bye ndibalagira. 26EZE044.017 And it shall come to pass, that when they enter in at the gates of the inner court, they shall be clothed with linen garments; and no wool shall come upon them, whiles they minister in the gates of the inner court, and within. %%% Awo olunaatuukanga bwe banaayingiranga mu miryango egy'oluggya olw'omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya bafuta; so tewaabenga byoya bye banaayambalanga bwe banaabanga nga baweerereza mu miryango egy'oluggya olw'omunda ne munda. 26EZE044.018 They shall have linen bonnets upon their heads, and shall have linen breeches upon their loins; they shall not gird themselves with any thing that causeth sweat. %%% Banaabanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga seruwale eza bafuta mu biwato byabwe; tebeesibenga kintu kyonna ekituuyanya. 26EZE044.019 And when they go forth into the utter court, even into the utter court to the people, they shall put off their garments wherein they ministered, and lay them in the holy chambers, and they shall put on other garments; and they shall not sanctify the people with their garments. %%% Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw'ebweru, mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulanga ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n'ebyanbalo byabwe. 26EZE044.020 Neither shall they shave their heads, nor suffer their locks to grow long; they shall only poll their heads. %%% So tebamwanga mitwe gyabwe, so tebakuzanga nivumbo gyabwe; banaasalanga busazi enviiri ez'oku mitwe gyabwe. 26EZE044.021 Neither shall any priest drink wine, when they enter into the inner court. %%% So ne kabona yenna tanywanga nwenge nga bayingira mu luggya lw'omunda. 26EZE044.022 Neither shall they take for their wives a widow, nor her that is put away: but they shall take maidens of the seed of the house of Israel, or a widow that had a priest before. %%% So tebawasanga namwandu newakubadde eyagobebwa bba: naye bawasenga abawala abatamanyi musajja ab'oku zadde ery'ennyumba ya Isiraeri, ba nnamwandu eyali muka kabona. 26EZE044.023 And they shall teach my people the difference between the holy and profane, and cause them to discern between the unclean and the clean. %%% Era banaayigirizanga abantu abantu bange enjawulo bw'eri ey'ekitukuvu n'ekitali kitukuvu, ne babaawuza ekitali kirongoofu n'ekirongoofu. 26EZE044.024 And in controversy they shall stand in judgment; and they shall judge it according to my judgments: and they shall keep my laws and my statutes in all mine assemblies; and they shall hallow my sabbaths. %%% N'awali empaka be banaayimiriranga okusala omusango; ng'emisango gyange bwe giri bwe banaazisalanga: era bakwatenga amateeka gange n'ebiragiro byange mu mbaga zange zonna ezaalagirwa; era batukuzenga ssabbiiti zange. 26EZE044.025 And they shall come at no dead person to defile themselves: but for father, or for mother, or for son, or for daughter, for brother, or for sister that hath had no husband, they may defile themselves. %%% So tebasembereranga mufu yenna okwegwagwawaza: naye olwa kitaabwe ba nnyaabwe oba mutabani waabwe oba muwala waabwe, olwa muganda waabwe oba mwannyinaabwe atabanga na bba, bayinza okweyonoona. 26EZE044.026 And after he is cleansed, they shall reckon unto him seven days. %%% Awo bw'amalanga okulongoosebwa, bamubalirenga ennaku musanvu. 26EZE044.027 And in the day that he goeth into the sanctuary, unto the inner court, to minister in the sanctuary, he shall offer his sin offering, saith the Lord GOD. %%% Awo ku lunaku lw'anayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw'omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ekibi, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE044.028 And it shall be unto them for an inheritance: I am their inheritance: and ye shall give them no possession in Israel: I am their possession. %%% Era baliba n’obusika; nze ndi busika bwabwe: so temubawanga butaka mu Isiraeri; nze butaka bwabwe. 26EZE044.029 They shall eat the meat offering, and the sin offering, and the trespass offering: and every dedicated thing in Israel shall be theirs. %%% Baaalyanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweewayo olw'omusango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kinaabanga kyabwe. 26EZE044.030 And the first of all the firstfruits of all things, and every oblation of all, of every sort of your oblations, shall be the priest's: ye shall also give unto the priest the first of your dough, that he may cause the blessing to rest in thine house. %%% N'ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone nammwe byonna binaabanga bya bakabona: era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka, okutuuza omukisa ku nnyumba yo. 26EZE044.031 The priests shall not eat of any thing that is dead of itself, or torn, whether it be fowl or beast. %%% Bakabona tebalyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka newakubadde eyataagulwa oba nnyonyi oba nsolo. 26EZE045.001 Moreover, when ye shall divide by lot the land for inheritance, ye shall offer an oblation unto the LORD, an holy portion of the land: the length shall be the length of five and twenty thousand reeds, and the breadth shall be ten thousand. This shall be holy in all the borders thereof round about. %%% Era nate bwe muligabana n'obululu ensi okuba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw'ensi omutukuvu: obuwanvu bwagwo buliba buwanvu obw'emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttano, n'obugazi kakumi: guliba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonna okwetooloola. 26EZE045.002 Of this there shall be for the sanctuary five hundred in length, with five hundred in breadth, square round about; and fifty cubits round about for the suburbs thereof. %%% Ku gwo kuliggibwako olw'ekifo ekitukuvu ebikumi bitaano obuwanvu n'ebikumi bitaano obugazi okwenkanankana enjuyi zonna: n'emikono amakumi ataano olw'embuga yaako enjuyi zonna. 26EZE045.003 And of this measure shalt thou measure the length of five and twenty thousand, and the breadth of ten thousand: and in it shall be the sanctuary and the most holy place. %%% Era oligeza ekigera kino, obuwanvu obw'obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi obw'akakumi: n'omwo mwe muliba awatukuvu, awatukuvu ennyo. 26EZE045.004 The holy portion of the land shall be for the priests the ministers of the sanctuary, which shall come near to minister unto the LORD: and it shall be a place for their houses, and an holy place for the sanctuary. %%% Ogwo gwe mugabo gw'ensi omutukuvu; guliba gwa bakabona, abaweereza ab'omu watukuvu, abasembera okuweereza Mukama; era kiriba kifo kya nnyumba zaabwe, era ekifo ekitukuvu eky'awatukuvu. 26EZE045.005 And the five and twenty thousand of length, and the ten thousand of breadth, shall also the Levites, the ministers of the house, have for themselves, for a possession for twenty chambers. %%% Kale Abaleevi, abaweereza ab'omu nnyumba, baliba n'obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu n'akakumi obugazi, okuba obutaka bwabwe, ku bwabwe, olw'amayu amakumi abiri. 26EZE045.006 And ye shall appoint the possession of the city five thousand broad, and five and twenty thousand long, over against the oblation of the holy portion: it shall be for the whole house of Israel. %%% Era muteekangawo obutaka obw'ekibuga, enkumi ttaano obugazi n'obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu, okuliraana ekitone eky'omugabo omutukuvu: buliba bwa nnyumba yonna eya Isiraeri. 26EZE045.007 And a portion shall be for the prince on the one side and on the other side of the oblation of the holy portion, and of the possession of the city, before the oblation of the holy portion, and before the possession of the city, from the west side westward, and from the east side eastward: and the length shall be over against one of the portions, from the west border unto the east border. %%% Era buli ekiriba eky'omulangira kiriba ku mabbali g'omugabo omutukuvu n'obutaka obw'ekibuga eruuyi n'eruuyi, mu maaso g'ekitone ekitukuvu ne mu maaso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw'ebuvanjuba ebuvanjuba: n'obuwanvu nga kyenkana n'omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba. 26EZE045.008 In the land shall be his possession in Israel: and my princes shall no more oppress my people; and the rest of the land shall they give to the house of Israel according to their tribes. %%% Buliba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri: so n'abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng'ebika byabwe bwe biri. 26EZE045.009 Thus saith the Lord GOD; Let it suffice you, O princes of Israel: remove violence and spoil, and execute judgment and justice, take away your exactions from my people, saith the Lord GOD. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kibamale, ai abalangira ba Isiraeri: muggyeewo ekyejo n'okunyaga, mutuukirize omusango n'eby'ensonga; abantu bange mu baggyeeko obukamuzi bwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE045.010 Ye shall have just balances, and a just ephah, and a just bath. %%% Mubanga ne minzaani ey'amazima ne efa ey'amazima n'ensuwa ey'amazima. 26EZE045.011 The ephah and the bath shall be of one measure, that the bath may contain the tenth part of an homer, and the ephah the tenth part of an homer: the measure thereof shall be after the homer. %%% Efa n'ensuwa bibenga bya kigera kimu, ensuwa egyemu ekitundu eky'ekkumi eky'ekomeri: ekigera kyayo kiba ng'ekomeri bw'eri. 26EZE045.012 And the shekel shall be twenty gerahs: twenty shekels, five and twenty shekels, fifteen shekels, shall be your maneh. %%% Ne sekeri eribagera amakumi abiri: sekeri amakumi abiri ne sekeri abiri mu ttaano ne sekeri kkumi na ttaano, maane yammwe bw'eriba bw'etyo. 26EZE045.013 This is the oblation that ye shall offer; the sixth part of an ephah of an homer of wheat, and ye shall give the sixth part of an ephah of an homer of barley: %%% Kino kye kitone kye munaawangayo; ekitundu eky'omukaaga ekya efa ekiggibwa ku komero ey'eŋŋaano, era munaawanga ekitundu eky'omukaaga ekya efa ku buli komeri eya sayiri: 26EZE045.014 Concerning the ordinance of oil, the bath of oil, ye shall offer the tenth part of a bath out of the cor, which is an homer of ten baths; for ten baths are an homer: %%% n'omugabo ogw'amafuta ogulagirwa, ogw'oku nsuwa ey'amafuta, gunaabanga kitundu kya kkumi eky'ensuwa, ekiggibwa ku kooli; ze nsuwa kkumi, ye komeri; kubanga ensuwa kkumi ye komeri: 26EZE045.015 And one lamb out of the flock, out of two hundred, out of the fat pastures of Israel; for a meat offering, and for a burnt offering, and for peace offerings, to make reconciliation for them, saith the Lord GOD. %%% n'omwana gw'endiga ogumu ogw'omu kisibo, oguggibwa ku bikumi bibiri, ku malundiro amagimu aga Isiraeri; olw'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okubatangiriranga, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE045.016 All the people of the land shall give this oblation for the prince in Israel. %%% Abantu bonna ab'omu nsi banaawanga olw'ekitone ekyo olw'omulangira mu Isiraeri. 26EZE045.017 And it shall be the prince's part to give burnt offerings, and meat offerings, and drink offerings, in the feasts, and in the new moons, and in the sabbaths, in all solemnities of the house of Israel: he shall prepare the sin offering, and the meat offering, and the burnt offering, and the peace offerings, to make reconciliation for the house of Israel. %%% Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez'ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri. 26EZE045.018 Thus saith the Lord GOD; In the first month, in the first day of the month, thou shalt take a young bullock without blemish, and cleanse the sanctuary: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye oddiranga ente envubuka eteriiko bulema; n'olongoosa awatukuvu. 26EZE045.019 And the priest shall take of the blood of the sin offering, and put it upon the posts of the house, and upon the four corners of the settle of the altar, and upon the posts of the gate of the inner court. %%% Ne kabona atoolenga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi n'aguteeka ku mifuubeeto gy'ennyumba ne ku nsonda ennya ez'omugo ogw'ekyoto ne ku mifuubeeto egy'oku mulyango ogw'oluggya olw'omunda. 26EZE045.020 And so thou shalt do the seventh day of the month for every one that erreth, and for him that is simple: so shall ye reconcile the house. %%% Era okolanga bw'otyo ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu olwa buli muntu asobya n'oyo atalina magezi: bwe mutyo bwe munaatangiriranga ennyumba. 26EZE045.021 In the first month, in the fourteenth day of the month, ye shall have the passover, a feast of seven days; unleavened bread shall be eaten. %%% Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ennya mubenga n'Okuyitako, embaga ey'ennaku omusanvu; emigaati egitazimbulukuswa gye ginaaliibwanga. 26EZE045.022 And upon that day shall the prince prepare for himself and for all the people of the land a bullock for a sin offering. %%% Awo ku lunakn olwo omulangira yeetegekerenga yennyini n'abantu bonna ab'omu nsi ente okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 26EZE045.023 And seven days of the feast he shall prepare a burnt offering to the LORD, seven bullocks and seven rams without blemish daily the seven days; and a kid of the goats daily for a sin offering. %%% Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga ategekenga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente musanvu n'endiga ennume musanvu ezitaliiko bulema, buli lunaku okumalako ennaku omusanvu; n'embuzi ennume buli lunaku okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 26EZE045.024 And he shall prepare a meat offering of an ephah for a bullock, and an ephah for a ram, and an hin of oil for an ephah. %%% Era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ya nte, ne efa ya ndiga ennume, na buli efa yini ey'amafuta. 26EZE045.025 In the seventh month, in the fifteenth day of the month, shall he do the like in the feast of the seven days, according to the sin offering, according to the burnt offering, and according to the meat offering, and according to the oil. %%% Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano mu mbaga akolenga bw'atyo okumala ennaku omusanvu; ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amafuta nga bwe gali. 26EZE046.001 Thus saith the Lord GOD; The gate of the inner court that looketh toward the east shall be shut the six working days; but on the sabbath it shall be opened, and in the day of the new moon it shall be opened. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulyango ogw'oluggya olw'omunda ogutunuulira obuvanjuba banaaguggalirangawo ennaku omukaaga ezikolerwamu omulimu; naye ku lunaku olwa ssabbiiti banaaguggulangawo, ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka banaaguggulangawo. 26EZE046.002 And the prince shall enter by the way of the porch of that gate without, and shall stand by the post of the gate, and the priests shall prepare his burnt offering and his peace offerings, and he shall worship at the threshold of the gate: then he shall go forth; but the gate shall not be shut until the evening. %%% Era omulangira anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango ogw'ebweru, n'ayimirira awali omufuubeeto ogw'omulyango, ne bakabona bategekenga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye ebiweebwayo olw'emirembe, n'asinziza awayingirirwa ow'omulyango; kale n'afuluma: naye omulyango tebaguggalangawo okutuusa akawungeezi. 26EZE046.003 Likewise the people of the land shall worship at the door of this gate before the LORD in the sabbaths and in the new moons. %%% N'abantu ab'omu nsi basinzizenga ku luggi olw'omulyango ogwo mu maaso ga Mukama ku ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. 26EZE046.004 And the burnt offering that the prince shall offer unto the LORD in the sabbath day shall be six lambs without blemish, and a ram without blemish. %%% N'ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky'anaawangayo eri Mukama kinaabanga ku lunaku olwa ssabbiiti abaana b'endiga mukaaga abataliiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema; 26EZE046.005 And the meat offering shall be an ephah for a ram, and the meat offering for the lambs as he shall be able to give, and an hin of oil to an ephah. %%% n'ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku ndiga ennume, n'ekiweebwayo eky'obutta ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta. 26EZE046.006 And in the day of the new moon it shall be a young bullock without blemish, and six lambs, and a ram: they shall be without blemish. %%% Ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka kinaabanga ente envubuka eteriiko bulema; n'abaana b'endiga mukaaga n'endiga ennume; zinaabanga ezitaliiko bulema: 26EZE046.007 And he shall prepare a meat offering, an ephah for a bullock, and an ephah for a ram, and for the lambs according as his hand shall attain unto, and an hin of oil to an ephah. %%% era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku nte, ne efa ku ndiga ennume, ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga, na buli efa yini ya mafuta. 26EZE046.008 And when the prince shall enter, he shall go in by the way of the porch of that gate, and he shall go forth by the way thereof. %%% Era omulangira bw'anaayingiranga, anaalingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, era anaavangamu ng'afuluma mu kkubo omwo. 26EZE046.009 But when the people of the land shall come before the LORD in the solemn feasts, he that entereth in by the way of the north gate to worship shall go out by the way of the south gate; and he that entereth by the way of the south gate shall go forth by the way of the north gate: he shall not return by the way of the gate whereby he came in, but shall go forth over against it. %%% Naye abantu ab'omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama mu mbaga ezaalagirwa, oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono okusinza anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo; n'oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono: taddirangayo mu kkubo ery'omulyango mwe yayingirira, naye avengamu nga yeesimbye mu maaso ge. 26EZE046.010 And the prince in the midst of them, when they go in, shall go in; and when they go forth, shall go forth. %%% N'omulangira, bwe banaayingirangamu, anaagenderanga wakati mu bo; era bwe banaavangamu, banaaviirangamu wamu. 26EZE046.011 And in the feasts and in the solemnities the meat offering shall be an ephah to a bullock, and an ephah to a ram, and to the lambs as he is able to give, and an hin of oil to an ephah. %%% Ne mu mbaga ne ku nnaku enkulu ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku nte ne efa ku ndiga ennume ne ku b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta. 26EZE046.012 Now when the prince shall prepare a voluntary burnt offering or peace offerings voluntarily unto the LORD, one shall then open him the gate that looketh toward the east, and he shall prepare his burnt offering and his peace offerings, as he did on the sabbath day: then he shall go forth; and after his going forth one shall shut the gate. %%% Era omulangira bw'anaategekanga ekyo ky'anaawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokebwa oba ebiweebwayo olw'emirembe okuba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, banaamuggulirangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era anaategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye by'awaayo ku bubwe nga bw'akola ku lunaku olwa ssabbiiti: kale afulumenga; awo ng'amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango. 26EZE046.013 Thou shalt daily prepare a burnt offering unto the LORD of a lamb of the first year without blemish: thou shalt prepare it every morning. %%% Era otegekanga omwana gw'endiga ogwakamala omwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama buli lunaku: buli nkya ogutegekanga. 26EZE046.014 And thou shalt prepare a meat offering for it every morning, the sixth part of an ephah, and the third part of an hin of oil, to temper with the fine flour; a meat offering continually by a perpetual ordinance unto the LORD. %%% Era otegekanga wamu nagwo ekiweebwayo eky’obutta buli enkya, ekitundu eky’ekkumi ekya efa n’ekitundu eky’okusatu ekya yini ey’amafuta, okunnyikiza obutta obulungi; ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama eky'olutata olw'ekiragiro ekitaliggwaawo. 26EZE046.015 Thus shall they prepare the lamb, and the meat offering, and the oil, every morning for a continual burnt offering. %%% Bwe batyo bwe baba bategekanga omwana gw'endiga n'ekiweebwayo eky'obutta n'amafuta; buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'olutata. 26EZE046.016 Thus saith the Lord GOD; If the prince give a gift unto any of his sons, the inheritance thereof shall be his sons'; it shall be their possession by inheritance. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulangira bw'anaawanga ekirabo mutabani we yenna, nga bwe busika bwe, buliba bwa batabani be; butaka bwabwe olw'obusika. 26EZE046.017 But if he give a gift of his inheritance to one of his servants, then it shall be his to the year of liberty; after it shall return to the prince: but his inheritance shall be his sons' for them. %%% Naye bw'anaawanga ku busika bwe omuddu we yenna ekirabo, kiriba kikye okutuuka ku mwaka ogw'eddembe; ne kiryoka kidda eri omulangira; naye obusika bwe, obwo buliba bwa batabani be. 26EZE046.018 Moreover the prince shall not take of the people's inheritance by oppression, to thrust them out of their possession; but he shall give his sons inheritance out of his own possession: that my people be not scattered every man from his possession. %%% Era nate omulangira tatwalanga ku busika obw'abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaawanga batabani be obusika ng'abuggya ku butaka bwe ye: abantu bange, balemenga okusaasaana buli muntu okuva ku butaka bwe. 26EZE046.019 After he brought me through the entry, which was at the side of the gate, into the holy chambers of the priests, which looked toward the north: and, behold, there was a place on the two sides westward. %%% Awo n'ampisa awayingirirwa ku mabbali g'omulyango n'anyingiza mu nju entukuvu eza bakabona ezaatunuulira obukiika obwa kkono era, laba, waaliwo ekifo ku luuyi olw'ennyuma ebugwanjuba. 26EZE046.020 Then said he unto me, This is the place where the priests shall boil the trespass offering and the sin offering, where they shall bake the meat offering; that they bear them not out into the utter court, to sanctify the people. %%% N'aŋŋamba nti Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw'omusango n'ekiweebwayo olw'ekibi, we banaayokeranga ekiweebwayo eky'obutta; baleme okubifulumya mu luggya olw'ebweru okutukuza abantu. 26EZE046.021 Then he brought me forth into the utter court, and caused me to pass by the four corners of the court; and, behold, in every corner of the court there was a court. %%% Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, n'ampisa ku nsonda ennya ez'oluggya era, laba, mu buli nsonda ey'oluggya nga mulimu oluggya. 26EZE046.022 In the four corners of the court there were courts joined of forty cubits long and thirty broad: these four corners were of one measure. %%% Mu nsonda ennya ez'oluggya mwalimu empya ezaakomerwa, obuwanvu bwazo emikono amakumi ana n'obugazi amakumi asatu: ezo ennya ezaali mu nsonda zaali za kigera kimu. 26EZE046.023 And there was a row of building round about in them, round about them four, and it was made with boiling places under the rows round about. %%% Era waaliwo olubu oluzimbibwa olwetoolodde mu zo okuzeetooloola ezo ennya, era lwakolebwa nga lulimu ebifo eby'okuufumbiramu wansi w'embu enjuyi zonna. 26EZE046.024 Then said he unto me, These are the places of them that boil, where the ministers of the house shall boil the sacrifice of the people. %%% Awo n'aŋŋamba nti Zino ze nnyumba ez'okufumbirangamu, abaweereza ab'ennyumba we banaafumbiranga ssaddaaka ey'abantu. 26EZE047.001 Afterward he brought me again unto the door of the house; and, behold, waters issued out from under the threshold of the house eastward: for the forefront of the house stood toward the east, and the waters came down from under from the right side of the house, at the south side of the altar. %%% Awo n'anzizaayo ku luggi olw'ennyumba; kale, laba, amazzi gaasibuka nga gava wansi w'omulyango ogw'ennyumba ebuvanjuba, kubanga obwenyi bw'ennyumba bwayolekera obuvanjuba: amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo ku luuyi olw'ekyoto olw'obukiika obwa ddyo. 26EZE047.002 Then brought he me out of the way of the gate northward, and led me about the way without unto the utter gate by the way that looketh eastward; and, behold, there ran out waters on the right side. %%% Awo n'anfulumiza mu kkubo ery'omulyango obukiika obwa kkono, n'antwala n'anneetoolooza mu kkubo ery'ebweru okutuuka ku mulyango ogw'ebweru mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba; era, laba, amazzi nga gakulukutira ku luuyi olwa ddyo. 26EZE047.003 And when the man that had the line in his hand went forth eastward, he measured a thousand cubits, and he brought me through the waters; the waters were to the ankles. %%% Omusajja bwe yavaamu ng'agenda ebuvanjuba ng'akutte omugwa mu mukono gwe, n'agera emikono lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu bukongovvule. 26EZE047.004 Again he measured a thousand, and brought me through the waters; the waters were to the knees. Again he measured a thousand, and brought me through; the waters were to the loins. %%% Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu maviivi. Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu kiwato. 26EZE047.005 Afterward he measured a thousand; and it was a river that I could not pass over: for the waters were risen, waters to swim in, a river that could not be passed over. %%% Oluvannyuma n'agera lukumi; ne guba mugga gwe ssaayinza kusomoka: kubanga amazzi gaali gatumbidde, amazzi ag'okuwugirira, omugga ogutayinzika kusomokeka. 26EZE047.006 And he said unto me, Son of man, hast thou seen this? Then he brought me, and caused me to return to the brink of the river. %%% N'aŋŋamba nti Omwana w'omumu, olabye? Awo n'antwala n'anzizaayo ku lubalama lw'omugga. 26EZE047.007 Now when I had returned, behold, at the bank of the river were very many trees on the one side and on the other. %%% Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw'omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n'eruuyi. 26EZE047.008 Then said he unto me, These waters issue out toward the east country, and go down into the desert, and go into the sea: which being brought forth into the sea, the waters shall be healed. %%% Awo n'aŋŋamba nti Amazzi gano gasibuka okugenda mu njuyi ez'ebuvanjuba, era galiserengeta mu Alaba: era galigenda eri ennyanja; mu nnyanja amazzi gye galidda agaasibusibwa; era amazzi galiwonyezebwa: 26EZE047.009 And it shall come to pass, that every thing that liveth, which moveth, whithersoever the rivers shall come, shall live: and there shall be a very great multitude of fish, because these waters shall come thither: for they shall be healed; and every thing shall live whither the river cometh. %%% Awo olulituuka buli kintu ekiramu kye gajjula mu buli kifo emigga gye girituuka kiriba kiramu; era walibaawo olufulube lw'ebyennyanja lungi nnyo: kubanga amazzi gano gatuuse eyo, n'amazzi ag'omu nnyanja galiwonyezebwa, na buli kintu kiriba kiramu buli omugga gye gunaatuukanga. 26EZE047.010 And it shall come to pass, that the fishers shall stand upon it from Engedi even unto Eneglaim; they shall be a place to spread forth nets; their fish shall be according to their kinds, as the fish of the great sea, exceeding many. %%% Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo: okuva e Engedi okutuuka e Negulayimu waliba ekifo eky'okusuuliramu emigonjo; eby'ennyanja byabwe biriba ng'engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini. 26EZE047.011 But the miry places thereof and the marishes thereof shall not be healed; they shall be given to salt. %%% Naye ebifo eby'ettosi n'emigga gyagwo tebiriwonyezebwa; biriweebwayo eri omunnyo. 26EZE047.012 And by the river upon the bank thereof, on this side and on that side, shall grow all trees for meat, whose leaf shall not fade, neither shall the fruit thereof be consumed: it shall bring forth new fruit according to his months, because their waters they issued out of the sanctuary: and the fruit thereof shall be for meat, and the leaf thereof for medicine. %%% Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'ebibala byagwo tebiriggwaawo: gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu: n'ebibala byagwo biriba mmere, n'amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya. 26EZE047.013 Thus saith the Lord GOD; This shall be the border, whereby ye shall inherit the land according to the twelve tribes of Israel: Joseph shall have two portions. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Eno ye eriba ensalo gye muligabanirako ensi okuba obusika ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri bwe biri: Yusufu aliba n'emigabo. 26EZE047.014 And ye shall inherit it, one as well as another: concerning the which I lifted up mine hand to give it unto your fathers: and this land shall fall unto you for inheritance. %%% Nammwe muligisika buli muntu nga munne: gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe: era ensi eno eribagwira okuba obusika. 26EZE047.015 And this shall be the border of the land toward the north side, from the great sea, the way of Hethlon, as men go to Zedad; %%% Era eno ye eriba ensalo y'ensi: ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okuva ku mabbali g'ekkubo ery'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi; 26EZE047.016 Hamath, Berothah, Sibraim, which is between the border of Damascus and the border of Hamath; Hazarhatticon, which is by the coast of Hauran. %%% Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'ensalo y'e Ddamasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani. 26EZE047.017 And the border from the sea shall be Hazarenan, the border of Damascus, and the north northward, and the border of Hamath. And this is the north side. %%% N'ensalo eva ku nnyanja eriba Kazalenooni awali ensalo y'e Ddamasiko, ne ku luuyi olw'obukiika obwa kkono obukiika obwa kkono ye eri ensalo y'e Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'obukiika obwa kkono. 26EZE047.018 And the east side ye shall measure from Hauran, and from Damascus, and from Gilead, and from the land of Israel by Jordan, from the border unto the east sea. And this is the east side. %%% N'oluuyi olw'ebuvanjuba wakati w’e Kawulaani ne Ddamasiko ne Gireyaadi n'ensi ya Isiraeri luliba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'obukiika obwa kkono okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba. Olwo lwe luuyi olw'ebuvanjuba. 26EZE047.019 And the south side southward, from Tamar even to the waters of strife in Kadesh, the river to the great sea. And this is the south side southward. %%% N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo eri obukiika obwa ddyo luliva ku Tamali okutuuka ku mazzi ag'e Meribosukadesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene. Olwo lwe luuyi olw'obukiika obwa ddyo mu busimba bwabwo. 26EZE047.020 The west side also shall be the great sea from the border, till a man come over against Hamath. This is the west side. %%% N'oluuyi olw'ebugwanjuba luliba nnyanja nnene okuva ku nsalo ey'obukiika obwa ddyo okutuuka awayolekera awayingirirwa mu Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'ebugwanjuba. 26EZE047.021 So shall ye divide this land unto you according to the tribes of Israel. %%% Bwe mutyo bwe muligabana ensi eno mwekka na mwekka, ng'ebika bya Isiraeri bwe biri. 26EZE047.022 And it shall come to pass, that ye shall divide it by lot for an inheritance unto you, and to the strangers that sojourn among you, which shall beget children among you: and they shall be unto you as born in the country among the children of Israel; they shall have inheritance with you among the tribes of Israel. %%% Awo olulituuka muligigabana n'obululu okuba obusika gye muli n'eri bannaggwanga abaabeera mu mmwe abalizaala abaana mu mmwe; kale baliba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; baliba n'obusika wamu nammwe mu bika bya Isiraeri. 26EZE047.023 And it shall come to pass, that in what tribe the stranger sojourneth, there shall ye give him his inheritance, saith the Lord GOD. %%% Awo olulituuka mu buli kika munnaggwanga mw'anaabeeranga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE048.001 Now these are the names of the tribes. From the north end to the coast of the way of Hethlon, as one goeth to Hamath, Hazarenan, the border of Damascus northward, to the coast of Hamath; for these are his sides east and west; a portion for Dan. %%% Era gano ge mannya g'ebika okuva ku nkomerero ey'obukiika obwa kkono, ku mabbali g'ekkubo Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Ddamasiko, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono ku mabbali ag'e Kamasi; era baliba n'embiriizi zaabwe nga zitunuulira ebuvanjuba n'ebugwanjuba; Ddaani omugabo gumu. 26EZE048.002 And by the border of Dan, from the east side unto the west side, a portion for Asher. %%% N'awali ensalo ya Ddaani, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Aseri omugabo gumu. 26EZE048.003 And by the border of Asher, from the east side even unto the west side, a portion for Naphtali. %%% N'awali ensalo ya Aseri, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Nafutaali omugabo gumu. 26EZE048.004 And by the border of Naphtali, from the east side unto the west side, a portion for Manasseh. %%% N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Manase omugabo gumu. 26EZE048.005 And by the border of Manasseh, from the east side unto the west side, a portion for Ephraim. %%% N'awali ensalo ya Manase, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Efulayimu omugabo gumu. 26EZE048.006 And by the border of Ephraim, from the east side even unto the west side, a portion for Reuben. %%% N'awali ensalo ya Efulayimu, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Lewubeeni omugabo gumu. 26EZE048.007 And by the border of Reuben, from the east side unto the west side, a portion for Judah. %%% N'awali ensalo ya Lewubeeni, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Yuda omugabo gumu. 26EZE048.008 And by the border of Judah, from the east side unto the west side, shall be the offering which ye shall offer of five and twenty thousand reeds in breadth, and in length as one of the other parts, from the east side unto the west side: and the sanctuary shall be in the midst of it. %%% Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, we waliba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu nga bwenkana ogumu ku migabo, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba: n'awatukuvu waliba mu kyo wakati. 26EZE048.009 The oblation that ye shall offer unto the LORD shall be of five and twenty thousand in length, and of ten thousand in breadth. %%% Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiriba obuwanvu bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'obugazi kakumi. 26EZE048.010 And for them, even for the priests, shall be this holy oblation; toward the north five and twenty thousand in length, and toward the west ten thousand in breadth, and toward the east ten thousand in breadth, and toward the south five and twenty thousand in length: and the sanctuary of the LORD shall be in the midst thereof. %%% N'ekitone ekitukuvu kiriba ky'abo, kya bakabona; eri obukiika obwa kkono obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'eri obugwanjuba obugazi kakumi, n'eri obuvanjuba obugazi kakumi, n'eri obukiika obwa ddyo obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: n'awatukuvu wa Mukama waliba wakati mu kyo. 26EZE048.011 It shall be for the priests that are sanctified of the sons of Zadok; which have kept my charge, which went not astray when the children of Israel went astray, as the Levites went astray. %%% Kiriba kya bakabona abatukuzibwa ab'oku batabani ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nnalagira; abataawaba nga abaana ba Isiraeri bwe baawaba, nga Abaleevi bwe baawaba. 26EZE048.012 And this oblation of the land that is offered shall be unto them a thing most holy by the border of the Levites. %%% Era kiriba gye bali ekitone ekiggibwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu ennyo, awali ensalo ey'Abaleevi. 26EZE048.013 And over against the border of the priests the Levites shall have five and twenty thousand in length, and ten thousand in breadth: all the length shall be five and twenty thousand, and the breadth ten thousand. %%% N'Abaleevi baliba n'ekitundu ekyenkana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi: obuwanvu bwonna buliba obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi: 26EZE048.014 And they shall not sell of it, neither exchange, nor alienate the firstfruits of the land: for it is holy unto the LORD. %%% So tebakitundanga so tebakiwaanyisanga, so n'ebibala ebibereberye eby'ensi tebifuukanga bya balala: kubanga kitukuvu eri Mukama. 26EZE048.015 And the five thousand, that are left in the breadth over against the five and twenty thousand, shall be a profane place for the city, for dwelling, and for suburbs: and the city shall be in the midst thereof. %%% N'enkumi ettaano ezifisseewo mu bugazi mu maaso g'obukumi bubiri mu enkumi ttaano ziriba za bantu bonna okulya, za kibuga, za kubeerwamu era za mbuga: era ekibuga kiriba wakati omwo. 26EZE048.016 And these shall be the measures thereof; the north side four thousand and five hundred, and the south side four thousand and five hundred, and on the east side four thousand and five hundred, and the west side four thousand and five hundred. %%% Era kuno kwe kuliba okugerebwa kwawo; olubiriizi olw'obukiika obwa kkono enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obukiika obwa ddyo enkumi nnya mu ebikumi bitaano, ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba, enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obugwanjuba enkumi nnya mu ebikumi bitaano. 26EZE048.017 And the suburbs of the city shall be toward the north two hundred and fifty, and toward the south two hundred and fifty, and toward the east two hundred and fifty, and toward the west two hundred and fifty. %%% Era ekibuga kiribaako embuga; eri obukiika obwa kkono ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obukiika obwa ddyo ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obuvanjuba ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obugwanjuba ebikumi bibiri mu ataano. 26EZE048.018 And the residue in length over against the oblation of the holy portion shall be ten thousand eastward, and ten thousand westward: and it shall be over against the oblation of the holy portion; and the increase thereof shall be for food unto them that serve the city. %%% N'obuwanvu obufisseewo obwenkana ekitone ekitukuvu buliba kakumi ebuvanjuba n'akakumi ebugwanjuba: era bulyenkana ekitone ekitukuvu; n'ebibala byamu biriba bya kulya eri abo abakola emirimu mu kibuga. 26EZE048.019 And they that serve the city shall serve it out of all the tribes of Israel. %%% N'abo abakola emirimu mu kibuga ab'omu bika byonna ebya Isiraeri banaakirimanga. 26EZE048.020 All the oblation shall be five and twenty thousand by five and twenty thousand: ye shall offer the holy oblation foursquare, with the possession of the city. %%% Ekitone kyonna kiriba obugazi obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyenkanankana enjuyi zonna, wamu n'obutaka obw'ekibuga. 26EZE048.021 And the residue shall be for the prince, on the one side and on the other of the holy oblation, and of the possession of the city, over against the five and twenty thousand of the oblation toward the east border, and westward over against the five and twenty thousand toward the west border, over against the portions for the prince: and it shall be the holy oblation; and the sanctuary of the house shall be in the midst thereof. %%% N'ekitundu ekifisseewo kiriba kya mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'eruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ttaano obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, n'ebugwanjuba mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ettaano okwolekera ensalo ey'ebuvagwanjuba, okwenkana emigabo, kye kiriba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu aw'ennyumba biriba wakati omwo. 26EZE048.022 Moreover from the possession of the Levites, and from the possession of the city, being in the midst of that which is the prince's, between the border of Judah and the border of Benjamin, shall be for the prince. %%% Era nate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'okuva ku bataka obw'ekibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'ensalo ya Yuda n'ensalo ya Benyamini, waliba wa mulangira. 26EZE048.023 As for the rest of the tribes, from the east side unto the west side, Benjamin shall have a portion. %%% N'ebika ebirala; okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Benyamini omugabo gumu. 26EZE048.024 And by the border of Benjamin, from the east side unto the west side, Simeon shall have a portion. %%% N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwaajuba; Simvoni omugabo gumu. 26EZE048.025 And by the border of Simeon, from the east side unto the west side, Issachar a portion. %%% N'awali ensalo ya Simyoni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Isakaali omugabo gumu. 26EZE048.026 And by the border of Issachar, from the east side unto the west side, Zebulun a portion. %%% N'awali ensalo ya Isakaali okuva ku Lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Zebbulooni omugabo gumu. 26EZE048.027 And by the border of Zebulun, from the east side unto the west side, Gad a portion. %%% N'awali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi o1w'ebugwanjuba; Gaadi omugabo gumu. 26EZE048.028 And by the border of Gad, at the south side southward, the border shall be even from Tamar unto the waters of strife in Kadesh, and to the river toward the great sea. %%% N'awali ensalo ya Gaadi, ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku mazzi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene. 26EZE048.029 This is the land which ye shall divide by lot unto the tribes of Israel for inheritance, and these are their portions, saith the Lord GOD. %%% Eyo ye nsi gye muligabanira n'obululu ebika bya Isiraeri okuba obusika, era egyo gye migabo gyabwe kinnakimu, bw'ayogera Mukama Katonda. 26EZE048.030 And these are the goings out of the city on the north side, four thousand and five hundred measures. %%% Era wano ekibuga we kikoma; ku lubiriizi olw'obukiika obwa kkono emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano ezigerebwa: 26EZE048.031 And the gates of the city shall be after the names of the tribes of Israel: three gates northward; one gate of Reuben, one gate of Judah, one gate of Levi. %%% n'emiryango egy'ekibuga giriba ng'amannya g'ebika bya Isiraeri; emiryango esatu egitunuulira obukiika obwa kkono: omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu; omulyango gwa Leevi gumu: 26EZE048.032 And at the east side four thousand and five hundred: and three gates; and one gate of Joseph, one gate of Benjamin, one gate of Dan. %%% ne ku lubiriizi olw'ebuvanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano; n'emiryango esatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu; omulyango gwa Ddaani gumu: 26EZE048.033 And at the south side four thousand and five hundred measures: and three gates; one gate of Simeon, one gate of Issachar, one gate of Zebulun. %%% ne ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano ezigerebwa; n'emiryango esatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu; omulyango gwa Zebbulooni gumu: 26EZE048.034 At the west side four thousand and five hundred, with their three gates; one gate of Gad, one gate of Asher, one gate of Naphtali. %%% ku lubiriizi olw'obugwanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'emiryango gyabwe esatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu; omulyango gwa Nafutaali gumu. 26EZE048.035 It was round about eighteen thousand measures: and the name of the city from that day shall be, The LORD is there. %%% Kiriba kya mmuli kakumi mu kanaana okwetooloola: n'erinnya ery'ekibuga okuva ku lunaku olwo liriba nti Mukama ali omwo. 27DAN001.001 In the third year of the reign of Jehoiakim king of Judah came Nebuchadnezzar king of Babylon unto Jerusalem, and besieged it. %%% Mu mwaka ogw'okusatu mu mirembe gya Yekoyakimu kabaka wa Yuda; Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi, n'akizingiza. 27DAN001.002 And the Lord gave Jehoiakim king of Judah into his hand, with part of the vessels of the house of God: which he carried into the land of Shinar to the house of his god; and he brought the vessels into the treasure house of his god. %%% Mukama n'awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwe, era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebimu: n'abitwala mu nsi Sinaali mu ssabo lya katonda we: n'aleeta ebintu mu ggwanika lya katonda we. 27DAN001.003 And the king spake unto Ashpenaz the master of his eunuchs, that he should bring certain of the children of Israel, and of the king's seed, and of the princes; %%% Kabaka n'agamba Asupenaazi omukulu w'abalaawe be, ayingize ku baana ba Isiraeri, ab'omu zzadde lya kabaka n'ery'abakungu: 27DAN001.004 Children in whom was no blemish, but well favoured, and skilful in all wisdom, and cunning in knowledge, and understanding science, and such as had ability in them to stand in the king's palace, and whom they might teach the learning and the tongue of the Chaldeans. %%% abavubuka abataaliko bulema, wabula ab'amaaso amalungi, era abategeevu mu magezi gonna, era abakabakaba mu kutegeera, era abaamanya ebiyigirizibwa, era abasaanira okuyimirira mu nnyumba ya kabaka: era abayigirizenga amagezi ag'Abakaludaaya n'olulimi lwabwe. 27DAN001.005 And the king appointed them a daily provision of the king's meat, and of the wine which he drank: so nourishing them three years, that at the end thereof they might stand before the king. %%% Kabaka n'abalagira omugabo ogwa bulijjo ogw'oku mmere ya kabaka, n'ogw'oku mwenge gwe yanywanga, era babaliisize emyaka esatu: bwe giriggwaako balyoke bayimirire mu maaso ga kabaka. 27DAN001.006 Now among these were of the children of Judah, Daniel, Hananiah, Mishael, and Azariah: %%% Ne muba mu abo, ku baana ba Yuda, Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya. 27DAN001.007 Unto whom the prince of the eunuchs gave names: for he gave unto Daniel the name of Belteshazzar; and to Hananiah, of Shadrach; and to Mishael, of Meshach; and to Azariah, of Abednego. %%% N'omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza: ne Kananiya n'amutuuma Saddulaaki: ne Misayeri n'amutuuma Mesaki: ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego. 27DAN001.008 But Daniel purposed in his heart that he would not defile himself with the portion of the king's meat, nor with the wine which he drank: therefore he requested of the prince of the eunuchs that he might not defile himself. %%% Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga n'emmere ya kabaka, newakubadde n'omwenge gwe yanywanga: kyeyava asaba omukulu w'abalaawe aleme okweyonoonyesanga. 27DAN001.009 Now God had brought Daniel into favour and tender love with the prince of the eunuchs. %%% Ne Katonda n'alabisa Danyeri ekisa n'okusaasirwa mu maaso g'omukulu w'abalaawe. 27DAN001.010 And the prince of the eunuchs said unto Daniel, I fear my lord the king, who hath appointed your meat and your drink: for why should he see your faces worse liking than the children which are of your sort? then shall ye make me endanger my head to the king. %%% Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga: kubanga kiki ekiriba kimulabya amaaso gammwe nga tegafaanana bulungi ng'abavubuka abenkana nammwe obukulu? Bwe gutyo omutwe gwange gwandirabye akabi eri kabaka. 27DAN001.011 Then said Daniel to Melzar, whom the prince of the eunuchs had set over Daniel, Hananiah, Mishael, and Azariah, %%% Danyeri n'alyoka agamba omusigire, omukulu w'abalaawe gwe yafuza Danyeri; Kananiya, Misayeri, ne Azaliya: nti 27DAN001.012 Prove thy servants, I beseech thee, ten days; and let them give us pulse to eat, and water to drink. %%% Okemere abaddu bo ennaku kkumi, nkwegayiridde: batuwenga ebijanjaalo okulya, n'amazzi okunywa. 27DAN001.013 Then let our countenances be looked upon before thee, and the countenance of the children that eat of the portion of the king's meat: and as thou seest, deal with thy servants. %%% Amaaso gaffe galyoke gakeberwe w'oli, n'amaaso g'abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka: era nga bw'oliraba, okole bw'otyo eri abaddu bo. 27DAN001.014 So he consented to them in this matter, and proved them ten days. %%% Awo n'abawulira mu bigambo ebyo, n'abakemera ennaku kkumi. 27DAN001.015 And at the end of ten days their countenances appeared fairer and fatter in flesh than all the children which did eat the portion of the king's meat. %%% Awo ennaku ekkumi bwe zaggwa, amaaso gaabwe ne gafaanana bulungi, era baali nga bagezze omubiri, okusinga abavubuka bonna abaalyanga ku mmere ya kabaka. 27DAN001.016 Thus Melzar took away the portion of their meat, and the wine that they should drink; and gave them pulse. %%% Awo omusigire n'abaggyako emmere yaabwe, n'omwenge gwe bandinyweddenga, n'abawa ebijanjaalo. 27DAN001.017 As for these four children, God gave them knowledge and skill in all learning and wisdom: and Daniel had understanding in all visions and dreams. %%% Naye abavubuka abo abana, Katonda n'abawa okumanya n'okutegeera mu kuyiga kwonna n'amagezi: Danyeri n'aba omukabakaba mu kwolesebwa kwonna ne mu birooto. 27DAN001.018 Now at the end of the days that the king had said he should bring them in, then the prince of the eunuchs brought them in before Nebuchadnezzar . %%% Awo ennaku bwe zaggwa, kabaka ze yagamba okubayingiza, omukulu w'abalaawe n'abayingiza mu maaso ga Nebukadduneeza. 27DAN001.019 And the king communed with them; and among them all was found none like Daniel, Hananiah, Mishael, and Azariah: therefore stood they before the king. %%% Kabaka n'anyumya nabo: ne mu abo bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya Misayeri, ne Azaliya: kyebaava bayimirira mu maaso ga kabaka. 27DAN001.020 And in all matters of wisdom and understanding, that the king enquired of them, he found them ten times better than all the magicians and astrologers that were in all his realm. %%% Ne mu buli kigambo eky'amagezi n'eky'okutegeera, kabaka kye yababuuza, yabalaba nga basinga emirundi kkumi abasawo, n'abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna. 27DAN001.021 And Daniel continued even unto the first year of king Cyrus. %%% Danyeri n'abeerawo okutuusa ku mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka. 27DAN002.001 And in the second year of the reign of Nebuchadnezzar, Nebuchadnezzar dreamed dreams, wherewith his spirit was troubled, and his sleep brake from him. %%% Ne mu mwaka ogw'okubiri mu mirembe gya Nebukadduneeza Nebukadduneeza n'aloota ebirooto: omwoyo gwe ne gweraliikirira, otulo twe ne tumubula. 27DAN002.002 Then the king commanded to call the magicians, and the astrologers, and the sorcerers, and the Chaldeans, for to shew the king his dreams. So they came and stood before the king. %%% Awo kabaka n'alagira bayite abasawo n'abafumu n'emmandwa n'Abakaludaaya, okubuulira kabaka ebirooto bye. Ne bayingira ne bayimirira mu maaso ga kabaka. 27DAN002.003 And the king said unto them, I have dreamed a dream, and my spirit was troubled to know the dream. %%% Kabaka n'abagamba nti Ndoose ekirooto, omwoyo gwange ne gweraliikirira okutegeera ekirooto. 27DAN002.004 Then spake the Chaldeans to the king in Syriack, O king, live for ever: tell thy servants the dream, and we will shew the interpretation. %%% Abakaludaaya ne balyoka bagamba kabaka mu lulimi Olusuuli nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: obuulire abaddu bo ekirooto, naffe tunaalaga amakulu gaakyo. 27DAN002.005 The king answered and said to the Chaldeans, The thing is gone from me: if ye will not make known unto me the dream, with the interpretation thereof, ye shall be cut in pieces, and your houses shall be made a dunghill. %%% Kabaka n'addamu n'agamba Abakaludaaya nti Ekigambo kinvuddeko: bwe mutantegeeze ekirooto n'amakulu gaakyo, munaatemebwatemebwa, n'ennyumba zammwe zirifuuka mmungo. 27DAN002.006 But if ye shew the dream, and the interpretation thereof, ye shall receive of me gifts and rewards and great honour: therefore shew me the dream, and the interpretation thereof. %%% Naye bwe munaalaga ekirooto n'amakulu gaakyo, munaaweebwa nze ebirabo n'empeera n'ekitiibwa kingi: kale mundage ekirooto n'amakulu gaakyo. 27DAN002.007 They answered again and said, Let the king tell his servants the dream, and we will shew the interpretation of it. %%% Ne baddamu omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Kabaka abuulire abaddu be ekirooto, naffe tunaalaga amakulu. 27DAN002.008 The king answered and said, I know of certainty that ye would gain the time, because ye see the thing is gone from me. %%% Kabaka n'addamu n'ayogera nti Ntegeeredde ddala nga mwagala okufuna ebbanga, kubanga mulabye ng'ekigambo kinvuddeko. 27DAN002.009 But if ye will not make known unto me the dream, there is but one decree for you: for ye have prepared lying and corrupt words to speak before me, till the time be changed: therefore tell me the dream, and I shall know that ye can shew me the interpretation thereof. %%% Naye bwe mutantegeeze ekirooto, waliwo etteeka limu gye muli: kubanga muteeseteese okulimba n'ebigambo ebivundu okwogera mu maaso gange okutuusa ebiro lwe biriwaanyisibwa: kale mumbuulire ekirooto, nange ndyoke ntegeere nga muyinza okundaga amakulu gaakyo. 27DAN002.010 The Chaldeans answered before the king, and said, There is not a man upon the earth that can shew the king's matter: therefore there is no king, lord, nor ruler, that asked such things at any magician, or astrologer, or Chaldean. %%% Abakaludaaya ne baddiramu mu maaso ga kabaka, ne boogera nti Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okulaga ekigambo kya kabaka: kubanga tewali kabaka newakubadde omukungu newakubadde owessaza eyali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna newakubadde omufumu yenna newakubadde Omukaludaaya yenna. 27DAN002.011 And it is a rare thing that the king requireth, and there is none other that can shew it before the king, except the gods, whose dwelling is not with flesh. %%% Era ekigambo kino tekirabwanga kabaka ky'awaliriza, so tewali ayinza okukiraga mu maaso ga kabaka, wabula bakatonda abatatuula na balina emibiri. 27DAN002.012 For this cause the king was angry and very furious, and commanded to destroy all the wise men of Babylon. %%% Kabaka kyeyava asunguwala ne yeejuumuula nnyo, n'alagira okutta abagezigezi bonna ab'e Babulooni. 27DAN002.013 And the decree went forth that the wise men should be slain; and they sought Daniel and his fellows to be slain. %%% Etteeka ne liteekebwa, abagezigezi ne bagenda okubatta: ne banoonya Danyeri ne banne okubatta. 27DAN002.014 Then Daniel answered with counsel and wisdom to Arioch the captain of the king's guard, which was gone forth to slay the wise men of Babylon: %%% Awo Danyeri n'addamu n'amagezi n'obukabakaba Aliyooki omwami wa baserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab'e Babulooni: 27DAN002.015 He answered and said to Arioch the king's captain, Why is the decree so hasty from the king? Then Arioch made the thing known to Daniel. %%% n'addamu n'agamba Aliyooki omwami wa kabaka nti Kiki ekyanguyiriza bwe kityo etteeka eriva eri kabaka? Aliyooki n'alyoka ategeeza Danyeri ekigambo ekyo. 27DAN002.016 Then Daniel went in, and desired of the king that he would give him time, and that he would shew the king the interpretation. %%% Danyeri n'ayingira ne yeegayirira kabaka okumuteekerawo olunaku, naye ng'aliraga kabaka amakulu. 27DAN002.017 Then Daniel went to his house, and made the thing known to Hananiah, Mishael, and Azariah, his companions: %%% Awo Danyeri n'agenda mu nnyumba ye, n'ategeeza ekigambo ekyo Kananiya, Misayeri ne Azaliya, banne: 27DAN002.018 That they would desire mercies of the God of heaven concerning this secret; that Daniel and his fellows should not perish with the rest of the wise men of Babylon. %%% basabe Katonda ow'omu ggulu okubasaasira olw'ekyama ekyo: Danyeri ne banne baleme okuzikirira awamu n'abagezigezi abalala ab'e Babulooni. 27DAN002.019 Then was the secret revealed unto Daniel in a night vision. Then Daniel blessed the God of heaven. %%% Ekyama ne kiryoka kibikkulirwa Danyeri mu kwolesebwa okw'ekiro. Danyeri n'alyoka yeebaza Katonda ow'omu ggulu. 27DAN002.020 Daniel answered and said, Blessed be the name of God for ever and ever: for wisdom and might are his: %%% Danyeri n'addamu n'agamba nti Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n'emirembe: kubanga amagezi n'amaanyi gage: 27DAN002.021 And he changeth the times and the seasons: he removeth kings, and setteth up kings: he giveth wisdom unto the wise, and knowledge to them that know understanding: %%% era oyo ye awaanyisa ebiro n'ebiseera: aggyawo bakabaka, era assaawo bakabaka: awa amagezi abagezigezi, n'okumanya eri abo abamanyi okutegeera: 27DAN002.022 He revealeth the deep and secret things: he knoweth what is in the darkness, and the light dwelleth with him. %%% abikkula ebigambo eby'obuziba eby'ekyama: ebiri mu kizikiza abimanyi, era omusana gubeera naye. 27DAN002.023 I thank thee, and praise thee, O thou God of my fathers, who hast given me wisdom and might, and hast made known unto me now what we desired of thee: for thou hast now made known unto us the king's matter. %%% Nkwebaza, nkutendereza, ai ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegeezezza ekigambo kya kabaka. 27DAN002.024 Therefore Daniel went in unto Arioch, whom the king had ordained to destroy the wise men of Babylon: he went and said thus unto him; Destroy not the wise men of Babylon: bring me in before the king, and I will shew unto the king the interpretation. %%% Danyeri kyeyava ayingira eri Aliyooki, kabaka gwe yali ateeseewo okuzikiriza abagezigezi ab'e Babulooni: n'agenda n'amugamba bw'ati nti Tozikiriza bagezigezi ab'e Babulooni: nnyingiza mu maaso ga kabaka, nange naalaga kabaka amakulu. 27DAN002.025 Then Arioch brought in Daniel before the king in haste, and said thus unto him, I have found a man of the captives of Judah, that will make known unto the king the interpretation. %%% Awo Aliyooki n'ayanguwa n'ayingiza Danyeri mu maaso ga kabaka, n'amugamba bw'ati nti Ndabye omusajja ow'omu baana ab'omu bunyage bwa Yuda, anaategeeza kabaka amakulu. 27DAN002.026 The king answered and said to Daniel, whose name was Belteshazzar, Art thou able to make known unto me the dream which I have seen, and the interpretation thereof? %%% Kabaka n'addamu n'agamba Danyeri, erinnya lye Berutesazza, nti Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnalaba, n'amakulu gaakyo? 27DAN002.027 Daniel answered in the presence of the king, and said, The secret which the king hath demanded cannot the wise men, the astrologers, the magicians, the soothsayers, shew unto the king; %%% Danyeri n'addiramu mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Ekyama kabaka ky'awalirizza, abagezigezi tebayinza kukiraga kabaka newakubadde abafumu newakubadde abasawo newakubadde abalaguzi: 27DAN002.028 But there is a God in heaven that revealeth secrets, and maketh known to the king Nebuchadnezzar what shall be in the latter days. Thy dream, and the visions of thy head upon thy bed, are these; %%% naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, era ategeezezza kabaka Nebukadduneeza ebiribaawo mu nnaku ez'enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye biibino 27DAN002.029 As for thee, O king, thy thoughts came into thy mind upon thy bed, what should come to pass hereafter: and he that revealeth secrets maketh known to thee what shall come to pass. %%% ggwe, ai kabaka, ebirowoozo byo ne bikujjira ku kitanda kyo, ebiribaawo oluvannyuma: naye abikkula ebyama akutegeezezza ebiribaawo. 27DAN002.030 But as for me, this secret is not revealed to me for any wisdom that I have more than any living, but for their sakes that shall make known the interpretation to the king, and that thou mightest know the thoughts of thy heart. %%% Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa nze olw'amagezi gonna ge nnina okusinga omuntu yenna omulamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa kabaka ategeezebwe amakulu, naawe otegeere ebirowoozo eby'omu mutima gwo. 27DAN002.031 Thou, O king, sawest, and behold a great image. This great image, whose brightness was excellent, stood before thee; and the form thereof was terrible. %%% Ggwe, ai kabaka, watunula, era, laba, ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo, eky'amaanyi, ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira mu maaso go: n'engeri yaakyo ya ntiisa. 27DAN002.032 This image's head was of fine gold, his breast and his arms of silver, his belly and his thighs of brass, %%% Ekifaananyi ekyo, omutwe gwakyo gwa zaabu nnungi, ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo bya ffeeza, olubuto lwakyo n'ebisambi byakyo bya kikomo, amagulu gaakyo ga kyuma, 27DAN002.033 His legs of iron, his feet part of iron and part of clay. %%% ebigere byakyo ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba. 27DAN002.034 Thou sawest till that a stone was cut out without hands, which smote the image upon his feet that were of iron and clay, and brake them to pieces. %%% Watunula okutuusa ejjinja lwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi ebigere eby'ekyuma n'ebbumba, ne libimenyaamenya. 27DAN002.035 Then was the iron, the clay, the brass, the silver, and the gold, broken to pieces together, and became like the chaff of the summer threshingfloors; and the wind carried them away, that no place was found for them: and the stone that smote the image became a great mountain, and filled the whole earth. %%% Ekyuma, n'ebbumba n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro ekyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala bwe zityo n'okulaba ne bitalaba bbanga: n'ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna. 27DAN002.036 This is the dream; and we will tell the interpretation thereof before the king. %%% Ekirooto kye kiikyo: era tunaayatula amakulu gaakyo mu maaso ga kabaka. 27DAN002.037 Thou, O king, art a king of kings: for the God of heaven hath given thee a kingdom, power, and strength, and glory. %%% Ggwe, ai kabaka, oli kabaka wa bakabaka, Katonda ow'eggulu gwe yawa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa: 27DAN002.038 And wheresoever the children of men dwell, the beasts of the field and the fowls of the heaven hath he given into thine hand, and hath made thee ruler over them all. Thou art this head of gold. %%% era abaana b'abantu gye batuula yonna, yagaba ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu ggulu mu mukono gwo, era yakubifuza ggwe byonna: ggwe oli mutwe gwa zaabu. 27DAN002.039 And after thee shall arise another kingdom inferior to thee, and another third kingdom of brass, which shall bear rule over all the earth. %%% Era walikuddirira obwakabaka obulala, bw'osinga ggwe, bulibaawo: n'obwakabaka obulala obw'okusatu obw'ekikomo obulifuga ensi zonna. 27DAN002.040 And the fourth kingdom shall be strong as iron: forasmuch as iron breaketh in pieces and subdueth all things: and as iron that breaketh all these, shall it break in pieces and bruise. %%% N'obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma: kubanga ekyuma kimenyaamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng'ekyuma ekibetenta ebyo byonna, bwe bulimenyaamenya bwe bulibetenta bwe butyo. 27DAN002.041 And whereas thou sawest the feet and toes, part of potters' clay, and part of iron, the kingdom shall be divided; but there shall be in it of the strength of the iron, forasmuch as thou sawest the iron mixed with miry clay. %%% Era kubanga walaba ebigere n'obugere, ekitundu kya bbumba ery'omubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi. 27DAN002.042 And as the toes of the feet were part of iron, and part of clay, so the kingdom shall be partly strong, and partly broken. %%% Era ng'obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba, era n'obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu kya maanyi, n'ekitundu kimenyefu. 27DAN002.043 And whereas thou sawest iron mixed with miry clay, they shall mingle themselves with the seed of men: but they shall not cleave one to another, even as iron is not mixed with clay. %%% Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi, balyetabula n'ezzadde ly'abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng'ekyuma bwe kiteetabula na bbumba. 27DAN002.044 And in the days of these kings shall the God of heaven set up a kingdom, which shall never be destroyed: and the kingdom shall not be left to other people, but it shall break in pieces and consume all these kingdoms, and it shall stand for ever. %%% Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow'eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n'okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna. 27DAN002.045 Forasmuch as thou sawest that the stone was cut out of the mountain without hands, and that it brake in pieces the iron, the brass, the clay, the silver, and the gold; the great God hath made known to the king what shall come to pass hereafter: and the dream is certain, and the interpretation thereof sure. %%% Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n'amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa. 27DAN002.046 Then the king Nebuchadnezzar fell upon his face, and worshipped Daniel, and commanded that they should offer an oblation and sweet odours unto him. %%% Awo kabaka Nebukadduneeza n'alyoka avuunama amaaso ge n'asinza Danyeri, n'alagira okumuwa ssaddaaka n'omugavu. 27DAN002.047 The king answered unto Daniel, and said, Of a truth it is, that your God is a God of gods, and a Lord of kings, and a revealer of secrets, seeing thou couldest reveal this secret. %%% Kabaka n'addamu Danyeri n'ayogera nti Mazima Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka; era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga oyinzizza okubikkula ekyama ekyo. 27DAN002.048 Then the king made Daniel a great man, and gave him many great gifts, and made him ruler over the whole province of Babylon, and chief of the governors over all the wise men of Babylon. %%% Kabaka n'alyoka afuula Danyeri omukulu, n'amuwa ebirabo bingi ebinene, n'amuwa okufuga essaza lyonna ery'e Babulooni, era okuba omwami omukulu ow'abagezigezi bonna ab'e Babulooni. 27DAN002.049 Then Daniel requested of the king, and he set Shadrach, Meshach, and Abednego, over the affairs of the province of Babylon: but Daniel sat in the gate of the king. %%% Danyeri n'asaba kabaka, n'akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu bigambo eby'essaza ery'e Babulooni: naye Danyeri n'abeera mu wankaaki wa kabaka. 27DAN003.001 Nebuchadnezzar the king made an image of gold, whose height was threescore cubits, and the breadth thereof six cubits: he set it up in the plain of Dura, in the province of Babylon. %%% Nebukadduneeza kabaka yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga, n'obugazi bwakyo emikono mukaaga: n'akiyimiriza mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ery'e Babulooni. 27DAN003.002 Then Nebuchadnezzar the king sent to gather together the princes, the governors, and the captains, the judges, the treasurers, the counsellors, the sheriffs, and all the rulers of the provinces, to come to the dedication of the image which Nebuchadnezzar the king had set up. %%% Awo Nebukadduneeza kabaka n'atuma okukuŋŋaanya abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abakungu, n'ab'amateeka, n'abakulu bonna ab'omu masaza, bajje eri ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza bwe kiriwongebwa. 27DAN003.003 Then the princes, the governors, and captains, the judges, the treasurers, the counsellors, the sheriffs, and all the rulers of the provinces, were gathered together unto the dedication of the image that Nebuchadnezzar the king had set up; and they stood before the image that Nebuchadnezzar had set up. %%% Awo abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abalamuzi n'abawanika, n'abakungu, n'ab'amateeka, n'abakulu bonna ab'omu masaza, ne bakuŋŋaana olw'okuwonga ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza: ne bayimirira mu maaso g'ekifaananyi Nebukadduneeza kye yayimiriza. 27DAN003.004 Then an herald cried aloud, To you it is commanded, O people, nations, and languages, %%% Awo omulangirizi n'ayogerera waggulu nti Mmwe mulagirwa, mmwe abantu, amawanga, n'ennimi, 27DAN003.005 That at what time ye hear the sound of the cornet, flute, harp, sackbut, psaltery, dulcimer, and all kinds of musick, ye fall down and worship the golden image that Nebuchadnezzar the king hath set up: %%% bwe munaawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza: 27DAN003.006 And whoso falleth not down and worshippeth shall the same hour be cast into the midst of a burning fiery furnace. %%% era buli anaalema okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro. 27DAN003.007 Therefore at that time, when all the people heard the sound of the cornet, flute, harp, sackbut, psaltery, and all kinds of musick, all the people, the nations, and the languages, fell down and worshipped the golden image that Nebuchadnezzar the king had set up. %%% Awo abantu bonna bwe baawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga; n'amadinda, n'ekidongo, na buli ngeri yonna evuga, abantu bonna amawanga, n'ennimi, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza. 27DAN003.008 Wherefore at that time certain Chaldeans came near, and accused the Jews. %%% Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bajja, ne baloopa Abayudaaya. 27DAN003.009 They spake and said to the king Nebuchadnezzar , O king, live for ever. %%% Ne baddamu ne bagamba Nebukadduneeza kabaka nti Ai kabaka, obeerenga omulamu emirembe gyonna. 27DAN003.010 Thou, O king, hast made a decree, that every man that shall hear the sound of the cornet, flute, harp, sackbut, psaltery, and dulcimer, and all kinds of musick, shall fall down and worship the golden image: %%% Ggwe, ai kabaka, wateeka etteeka, nti buli anaawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu: 27DAN003.011 And whoso falleth not down and worshippeth, that he should be cast into the midst of a burning fiery furnace. %%% era buli anaalema okuvuunama n'okusinza alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro. 27DAN003.012 There are certain Jews whom thou hast set over the affairs of the province of Babylon, Shadrach, Meshach, and Abednego; these men, O king, have not regarded thee: they serve not thy gods, nor worship the golden image which thou hast set up. %%% Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu bigambo eby'essaza ery'e Babulooni, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego: abasajja abo, ai kabaka, tebakulowoozezza: tebaweereza bakatonda bo, so tebasinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza. 27DAN003.013 Then Nebuchadnezzar in his rage and fury commanded to bring Shadrach, Meshach, and Abednego. Then they brought these men before the king. %%% Awo Nebukadduneeza n'alyoka asunguwala ne yeejuumuula n'alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka. 27DAN003.014 Nebuchadnezzar spake and said unto them, Is it true, O Shadrach, Meshach, and Abednego, do not ye serve my gods, nor worship the golden image which I have set up? %%% Nebukadduneeza n'addamu n'abagamba nti Mmwe Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mukigenderedde bugenderezi obutaweereza katonda wange, n'obutasinza kifaananyi kya zaabu kye nnayimiriza. 27DAN003.015 Now if ye be ready that at what time ye hear the sound of the cornet, flute, harp, sackbut, psaltery, and dulcimer, and all kinds of musick, ye fall down and worship the image which I have made; well: but if ye worship not, ye shall be cast the same hour into the midst of a burning fiery furnace; and who is that God that shall deliver you out of my hands? %%% Kale nno, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, okuvuunama n'okusinza ekifaananyi kye nnakola, kale: naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange? 27DAN003.016 Shadrach, Meshach, and Abednego, answered and said to the king, O Nebuchadnezzar , we are not careful to answer thee in this matter. %%% Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne baddamu ne bagamba kabaka nti Ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kukuddamu mu kigambo ekyo. 27DAN003.017 If it be so, our God whom we serve is able to deliver us from the burning fiery furnace, and he will deliver us out of thine hand, O king. %%% Bwe kinaaba bwe kityo; Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, ai kabaka. 27DAN003.018 But if not, be it known unto thee, O king, that we will not serve thy gods, nor worship the golden image which thou hast set up. %%% Naye bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza. 27DAN003.019 Then was Nebuchadnezzar full of fury, and the form of his visage was changed against Shadrach, Meshach, and Abednego: therefore he spake, and commanded that they should heat the furnace one seven times more than it was wont to be heated. %%% Awo Nebukadduneeza n'alyoka yeejuumuulira ddala, n'engeri y'amaaso ge n'ewaanyisibwa eri Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego: n'ayogera, n'alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okukira bwe kyali kyase. 27DAN003.020 And he commanded the most mighty men that were in his army to bind Shadrach, Meshach, and Abednego, and to cast them into the burning fiery furnace. %%% N'alagira ab'amaanyi abamu ab'omu ggye lye okusiba Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, okubasuula mu kikoomi ekyaka n'omuliro. 27DAN003.021 Then these men were bound in their coats, their hosen, and their hats, and their other garments, and were cast into the midst of the burning fiery furnace. %%% Awo abasajja abo ne balyoka babasiba nga bambadde seruwale zaabwe, n'ebizibawo byabwe n'eminagiro gyabwe, n'engoye, zaabwe endala, ne babasuula wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro. 27DAN003.022 Therefore because the king's commandment was urgent, and the furnace exceeding hot, the flame of the fire slew those men that took up Shadrach, Meshach, and Abednego. %%% Awo kubanga kabaka yabakuutirira ddala, n'ekikoomi nga kyase nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaakwata Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. 27DAN003.023 And these three men, Shadrach, Meshach, and Abednego, fell down bound into the midst of the burning fiery furnace. %%% N'abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne bagwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro, nga basibiddwa. 27DAN003.024 Then Nebuchadnezzar the king was astonied, and rose up in haste, and spake, and said unto his counsellors, Did not we cast three men bound into the midst of the fire? They answered and said unto the king, True, O king. %%% Awo Nebukadduneeza kabaka n'alyoka yeewuunya, n'ayanguwa n'agolokoka: n'ayogera n'agamba abakungu be nti Tetusudde basajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro? Ne baddamu ne bagamba kabaka nti Mazima, ai kabaka. 27DAN003.025 He answered and said, Lo, I see four men loose, walking in the midst of the fire, and they have no hurt; and the form of the fourth is like the Son of God. %%% N'addamu n'ayogera nti Laba, nze ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulira wakati mu muliro, so nga tebaliiko kabi: n'okufaanana kw'ow'okuna kuliŋŋanga omwana wa bakatonda. 27DAN003.026 Then Nebuchadnezzar came near to the mouth of the burning fiery furnace, and spake, and said, Shadrach, Meshach, and Abednego, ye servants of the most high God, come forth, and come hither. Then Shadrach, Meshach, and Abednego, came forth of the midst of the fire. %%% Nebukadduneeza n'alyoka asembera ku mulyango gw'ekikoomi ekyaka n'omuliro: n'ayogera nti Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mmwe abaddu ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume mujje wano. Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne balyoka bafuluma wakati mu muliro. 27DAN003.027 And the princes, governors, and captains, and the king's counsellors, being gathered together, saw these men, upon whose bodies the fire had no power, nor was an hair of their head singed, neither were their coats changed, nor the smell of fire had passed on them. %%% N'abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga; n'abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziwaanyisibbwa, so n'olusu lw'omuliro nga terubabaddeeko. 27DAN003.028 Then Nebuchadnezzar spake, and said, Blessed be the God of Shadrach, Meshach, and Abednego, who hath sent his angel, and delivered his servants that trusted in him, and have changed the king's word, and yielded their bodies, that they might not serve nor worship any god, except their own God. %%% Nebukadduneeza n'ayogera nti Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaanyisa ekigambo kya kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, wabula Katonda waabwe bo. 27DAN003.029 Therefore I make a decree, That every people, nation, and language, which speak any thing amiss against the God of Shadrach, Meshach, and Abednego, shall be cut in pieces, and their houses shall be made a dunghill: because there is no other God that can deliver after this sort. %%% Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n'eggwanga, n'olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abedunego, balitemebwatemebwa, n'ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo. 27DAN003.030 Then the king promoted Shadrach, Meshach, and Abednego, in the province of Babylon. %%% Kabaka n'alyoka akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu ssaza ery'e Babulooni. 27DAN004.001 Nebuchadnezzar the king, unto all people, nations, and languages, that dwell in all the earth; Peace be multiplied unto you. %%% Nebukadduleeza kabaka nze mbawandiikidde abantu bonna, amawanga, n'ennimi, abatuula mu nsi zonna: emirembe gyeyongere gye muli. 27DAN004.002 I thought it good to shew the signs and wonders that the high God hath wrought toward me. %%% Ndabye nga kirungi okulaga obubonero n'eby'amagero Katonda Ali waggulu ennyo bye yakola gye ndi. 27DAN004.003 How great are his signs! and how mighty are his wonders! his kingdom is an everlasting kingdom, and his dominion is from generation to generation. %%% Obubonero bwe nga bukulu! n'eby'amagero bye nga bya maanyi! obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'okufuga kwe kwa mirembe na mirembe. 27DAN004.004 I Nebuchadnezzar was at rest in mine house, and flourishing in my palace: %%% Nze Nebukadduleeza nali mpummulidde mu nnyumba yange, era nga njeerera mu lubiri lwange. 27DAN004.005 I saw a dream which made me afraid, and the thoughts upon my bed and the visions of my head troubled me. %%% Ne ndaba ekirooto ekyantiisa; n'ebyo bye nnalowoolezanga ku kitanda kyange, n'omutwe gwange bye gwayolesebwanga, ne binneeraliikiriza. 27DAN004.006 Therefore made I a decree to bring in all the wise men of Babylon before me, that they might make known unto me the interpretation of the dream. %%% Kyennava nteeka etteeka okuyingiza gye ndi abagezigezi bonna ab'e Babulooni bantegeeze amakulu g'ekirooto. 27DAN004.007 Then came in the magicians, the astrologers, the Chaldeans, and the soothsayers: and I told the dream before them; but they did not make known unto me the interpretation thereof. %%% Awo ne bayingira abasawo, n'abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi: ne njatulira ekirooto mu maaso gaabwe: naye ne batantegeeza makulu gaakyo. 27DAN004.008 But at the last Daniel came in before me, whose name was Belteshazzar, according to the name of my God, and in whom is the spirit of the holy gods: and before him I told the dream, saying, %%% Naye oluvannyuma Danyeri n'ayingira gye ndi, erinnya lye Berutesazza, ng'erinnya lya katonda wange bwe liri, era omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu; ne njatulira ekirooto mu maaso ge nti 27DAN004.009 O Belteshazzar, master of the magicians, because I know that the spirit of the holy gods is in thee, and no secret troubleth thee, tell me the visions of my dream that I have seen, and the interpretation thereof. %%% Ggwe Berutesazza, omukulu w'abasawo, kubanga mmanyi ng'omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so nga tewali kyama ekikweraliikiriza, mbuulira bye nnayolesebwa mu kirooto kyange kye ndabye, n'amakulu gaakyo. 27DAN004.010 Thus were the visions of mine head in my bed; I saw, and behold a tree in the midst of the earth, and the height thereof was great. %%% Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: natunula, era, laba, omuti wakati mu nsi, n'obuwanvu bwagwo bunene. 27DAN004.011 The tree grew, and was strong, and the height thereof reached unto heaven, and the sight thereof to the end of all the earth: %%% Omuti ne gukula, ne guba gwa maanyi, n'obuwanvu bwagwo ne butuuka mu ggulu, n'okulengerwa kwagwo ne kutuuka ku nkomerero y'ensi zonna. 27DAN004.012 The leaves thereof were fair, and the fruit thereof much, and in it was meat for all: the beasts of the field had shadow under it, and the fowls of the heaven dwelt in the boughs thereof, and all flesh was fed of it. %%% Amalagala gaagwo malungi, n'ebibala byagwo bingi, era mu gwo nwalimu emmere emala bonna: ensolo ez'omu nsiko zeggamanga nu kisiikirize kyagwo, n'ennyonyi z'omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo, ne byonna ebirina emibiri ne bigulyangako. 27DAN004.013 I saw in the visions of my head upon my bed, and, behold, a watcher and an holy one came down from heaven; %%% Nalaba mu ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange, era laba, omutunuzi era omutukuvu n'akka ng'ava mu ggulu. 27DAN004.014 He cried aloud, and said thus, Hew down the tree, and cut off his branches, shake off his leaves, and scatter his fruit: let the beasts get away from under it, and the fowls from his branches: %%% N'ayogerera waggulu, n'agamba bw'ati nti Temera ddala omuti, ogutemeko amaabi gaagwo, ogukunkumuleko amaagala gaagwo, osaasaanye ebibala byagwo: ensolo zive wansi waagwo, n’ennyonyi ku matabi gaagwo. 27DAN004.015 Nevertheless leave the stump of his roots in the earth, even with a band of iron and brass, in the tender grass of the field; and let it be wet with the dew of heaven, and let his portion be with the beasts in the grass of the earth: %%% Era naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omugonvu ogw'omu nsiko: era kitobenga omusulo ogw'omu ggulu, n'omugabo gwe gubenga n'ensolo mu muddo ogw'ensi: 27DAN004.016 Let his heart be changed from man's, and let a beast's heart be given unto him; and let seven times pass over him. %%% omutima gwe guwaanyisibwe obutaba gwa muntu, aweebwe omutima gw’ensolo: era ebisera omusanvu bimuyiteko. 27DAN004.017 This matter is by the decree of the watchers, and the demand by the word of the holy ones: to the intent that the living may know that the most High ruleth in the kingdom of men, and giveth it to whomsoever he will, and setteth up over it the basest of men. %%% Omusango ogwo guvudde mu tteeka ery'abatunuzi, n'okuteesa okwo kuvudde mu kigambo eky'abatukuvu: abalamu balyoke bategeere ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa buli gw'ayagala, era ng'akuza ku bwo asinga abantu bonna obunaku. 27DAN004.018 This dream I king Nebuchadnezzar have seen. Now thou, O Belteshazzar, declare the interpretation thereof, forasmuch as all the wise men of my kingdom are not able to make known unto me the interpretation: but thou art able; for the spirit of the holy gods is in thee. %%% Ekirooto ekyo nze kabaka Nebukadduneeza nakirabye: naawe, gwe Berutesazza, tegeeza amakulu, kubanga abagezigezi bonna ab'omu bwakabaka bwange tebayinza kutegeeza makulu: naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe. 27DAN004.019 Then Daniel, whose name was Belteshazzar, was astonied for one hour, and his thoughts troubled him. The king spake, and said, Belteshazzar, let not the dream, or the interpretation thereof, trouble thee. Belteshazzar answered and said, My lord, the dream be to them that hate thee, and the interpretation thereof to thine enemies. %%% Awo Danyeri, erinnya lye Berutesazza, n'alyoka yeewuunya akaseera, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza. Kabaka n'addamu n'ayogera nti Berutesazza, ekirooto kireme okukweraliikiriza newakubadde amakulu. Berutesazza n'addamu n'agamba nti Mukama wange, ekirooto kibe eri abo abakukyawa, n'amakulu gaakyo eri abalabe bo. 27DAN004.020 The tree that thou sawest, which grew, and was strong, whose height reached unto the heaven, and the sight thereof to all the earth; %%% Omuti gwe walabye, ogwameze ne guba gwa maanyi, obuwanvu bwagwo ne butuuka mu ggulu, n'okulengerwa kwagwo mu nsi zonna: 27DAN004.021 Whose leaves were fair, and the fruit thereof much, and in it was meat for all; under which the beasts of the field dwelt, and upon whose branches the fowls of the heaven had their habitation: %%% amalagala gaagwo malungi, n'ebibala byagwo bingi, era mu gwo mulimu emmere emala bonna: n'ensolo ez'omu nsiko ne zibeera wansi waagwo, n'ennyonyi ez'omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo, 27DAN004.022 It is thou, O king, that art grown and become strong: for thy greatness is grown, and reacheth unto heaven, and thy dominion to the end of the earth. %%% ye ggwe, ai kabaka, akuze n'oba wa maanyi: kubanga obukulu bwo bukuze, ne butuuka mu ggulu, n'okufuga kwo ku nkomerero y'ensi zonna. 27DAN004.023 And whereas the king saw a watcher and an holy one coming down from heaven, and saying, Hew the tree down, and destroy it; yet leave the stump of the roots thereof in the earth, even with a band of iron and brass, in the tender grass of the field; and let it be wet with the dew of heaven, and let his portion be with the beasts of the field, till seven times pass over him; %%% Era kubanga kabaka yalabye omutunuzi era omutukuvu ng'akka ng'ava mu ggulu, era ng'ayogera nti Temera ddala omuti, oguzikirize: era naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kirekere mu ttaka: nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omugonvu ogw'omu nsiko: era kitobenga n'omusulo ogw'omu ggulu, n'omugabo gwe gubenga n'ensolo ez'omu nsiko: okutuusa ebiseera omusanvu lwe birimuyitako: 27DAN004.024 This is the interpretation, O king, and this is the decree of the most High, which is come upon my lord the king: %%% amakulu ge gano ai kabaka, era lye tteeka ly'Oyo Ali waggulu ennyo, erijjidde mukama wange kabaka: 27DAN004.025 That they shall drive thee from men, and thy dwelling shall be with the beasts of the field, and they shall make thee to eat grass as oxen, and they shall wet thee with the dew of heaven, and seven times shall pass over thee, till thou know that the most High ruleth in the kingdom of men, and giveth it to whomsoever he will. %%% ng'oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko, era oliriisibwa omuddo ng'ente, era olitoba omusulo ogw'omu ggulu, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala. 27DAN004.026 And whereas they commanded to leave the stump of the tree roots; thy kingdom shall be sure unto thee, after that thou shalt have known that the heavens do rule. %%% Era kubanga balagidde okuleka ekikonge ky'ekikolo ky'omuti: obwakabaka bwo bulinywera gy'oli bw'olimala okutegeera ng'eggulu lye lifuga. 27DAN004.027 Wherefore, O king, let my counsel be acceptable unto thee, and break off thy sins by righteousness, and thine iniquities by shewing mercy to the poor; if it may be a lengthening of thy tranquillity. %%% Kale, ai kabaka, okuteesa kwange kukkirizibwe mu maaso go, era omalire ddala ebibi byo ng'okola eby'obutuukirivu, n'ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu ng'osaasira abaavu, mpozzi okuwummula kwo kwongerweko. 27DAN004.028 All this came upon the king Nebuchadnezzar . %%% Ebyo byonna byatuuka ku kabaka Nebukadduneeza. 27DAN004.029 At the end of twelve months he walked in the palace of the kingdom of Babylon. %%% Emyezi kkumi n'ebiri bwe gyayitawo, yali atambula mu lubiri lw'e Babulooni. 27DAN004.030 The king spake, and said, Is not this great Babylon, that I have built for the house of the kingdom by the might of my power, and for the honour of my majesty? %%% Kabaka n'ayogera nti Kino si Babulooni ekikulu, kye nnazimba okuba ennyumba ya bakabaka n'amaanyi ag'obuyinza bwange n'olw'ekitiibwa eky'obukulu bwange? 27DAN004.031 While the word was in the king's mouth, there fell a voice from heaven, saying, O king Nebuchadnezzar , to thee it is spoken; The kingdom is departed from thee. %%% Ekigambo kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka, eddoboozi ne ligwa nga liva mu ggulu, nti Ggwe kabaka Nebukadduneeza, kyogerwa eri ggwe: obwakabaka bukuvuddeko. 27DAN004.032 And they shall drive thee from men, and thy dwelling shall be with the beasts of the field: they shall make thee to eat grass as oxen, and seven times shall pass over thee, until thou know that the most High ruleth in the kingdom of men, and giveth it to whomsoever he will. %%% Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko: era oliriisibwa omuddo ng'ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala. 27DAN004.033 The same hour was the thing fulfilled upon Nebuchadnezzar : and he was driven from men, and did eat grass as oxen, and his body was wet with the dew of heaven, till his hairs were grown like eagles' feathers, and his nails like birds' claws. %%% Mu ssaawa eyo ekigambo ne kituukiririra Nebukadduneeza: n'agobebwa okuva mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, n'omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw'omu ggulu, okutuusa enviiri ze lwe zaakula nga ebyoya by'empungu, n'enjala ze nga enjala z'ennyonyi. 27DAN004.034 And at the end of the days I Nebuchadnezzar lifted up mine eyes unto heaven, and mine understanding returned unto me, and I blessed the most High, and I praised and honoured him that liveth for ever, whose dominion is an everlasting dominion, and his kingdom is from generation to generation: %%% Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe: 27DAN004.035 And all the inhabitants of the earth are reputed as nothing: and he doeth according to his will in the army of heaven, and among the inhabitants of the earth: and none can stay his hand, or say unto him, What doest thou? %%% n'abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw'ayagala mu ggye ery'omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti Okola ki? 27DAN004.036 At the same time my reason returned unto me; and for the glory of my kingdom, mine honour and brightness returned unto me; and my counsellors and my lords sought unto me; and I was established in my kingdom, and excellent majesty was added unto me. %%% Mu kiseera ekyo amagezi gange ne ganziramu: n'olw'ekitiibwa eky'obwakabaka bwange, obukulu bwange n'okumasamasa kwange ne binziramu: n'abakungu bange n'abaami bange ne bannoonya; ne nnywezebwa mu bwakabaka bwange, n'obukulu obungi ennyo ne bunnyongerwako. 27DAN004.037 Now I Nebuchadnezzar praise and extol and honour the King of heaven, all whose works are truth, and his ways judgment: and those that walk in pride he is able to abase. %%% Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w'eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n'amakubo ge ga nsonga: n'abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza. 27DAN005.001 Belshazzar the king made a great feast to a thousand of his lords, and drank wine before the thousand. %%% Berusazza kabaka yafumbira embaga ennene abaami be lukumi, n'anywera omwenge mu maaso g'abo olukumi. 27DAN005.002 Belshazzar, whiles he tasted the wine, commanded to bring the golden and silver vessels which his father Nebuchadnezzar had taken out of the temple which was in Jerusalem; that the king, and his princes, his wives, and his concubines, might drink therein. %%% Berusazza, bwe yali ng'alega ku mwenge, n'alagira okuleeta ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi: kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, babinywese. 27DAN005.003 Then they brought the golden vessels that were taken out of the temple of the house of God which was at Jerusalem; and the king, and his princes, his wives, and his concubines, drank in them. %%% Awo ne baleeta ebintu ebya ffeeza ebyaggibwa mu yeekaalu ey'ennyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi: ne kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, ne babinywesa. 27DAN005.004 They drank wine, and praised the gods of gold, and of silver, of brass, of iron, of wood, and of stone. %%% Ne banywa omwenge, ne batendereza bakatonda aba zaabu n'aba ffeeza, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja. 27DAN005.005 In the same hour came forth fingers of a man's hand, and wrote over against the candlestick upon the plaister of the wall of the king's palace: and the king saw the part of the hand that wrote. %%% Mu ssaawa eyo ne walabika engalo z'omukono gw'omuntu, ne ziwandiika mu maaso g'ettabaaza ku ttaka ery'oku kisenge eky'olubiri: kabaka n'alaba ekitundu ky'omukono nga kiwandiika. 27DAN005.006 Then the king's countenance was changed, and his thoughts troubled him, so that the joints of his loins were loosed, and his knees smote one against another. %%% Awo amaaso ga kabaka ne gawaanyisibwa gy'ali, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza: n'ennyingo ez'omu kiwato kye ne ziddirira, n'amaviivi ge ne gakubagana. 27DAN005.007 The king cried aloud to bring in the astrologers, the Chaldeans, and the soothsayers. And the king spake, and said to the wise men of Babylon, Whosoever shall read this writing, and shew me the interpretation thereof, shall be clothed with scarlet, and have a chain of gold about his neck, and shall be the third ruler in the kingdom. %%% Kabaka n'ayogerera waggulu okuyingiza abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi. Kabaka n'ayogera n'agamba abagezigezi ab'e Babulooni nti Buli anaasoma okuwandiika kuno, era anandaga amakulu gaakwo, alyambazibwa olw'effulungu, era aliba n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era aliba mukulu ow'okusatu mu bwakabaka. 27DAN005.008 Then came in all the king's wise men: but they could not read the writing, nor make known to the king the interpretation thereof. %%% Awo ne muyingira abagezigezi bonna aba kabaka: naye ne batayinza kusoma kuwandiika okwo, newakubadde okutegeeza kabaka amakulu. 27DAN005.009 Then was king Belshazzar greatly troubled, and his countenance was changed in him, and his lords were astonied. %%% Kabaka Berusazza n'alyoka yeeraliikirira nnyo, amaaso ge ne gawaanyisibwa gy'ali: abaami be ne babulwa amagezi. 27DAN005.010 Now the queen by reason of the words of the king and his lords came into the banquet house: and the queen spake and said, O king, live for ever: let not thy thoughts trouble thee, nor let thy countenance be changed: %%% Awo kaddulubaale n'ayingira mu nju ey'embaga olw'ebigambo bya kabaka n'abaami be; kaddulubaale n'ayogera nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: ebirowoozo byo bireme okukweraliikiriza, so n'amaaso go galeme okuwaanyisibwa: 27DAN005.011 There is a man in thy kingdom, in whom is the spirit of the holy gods; and in the days of thy father light and understanding and wisdom, like the wisdom of the gods, was found in him; whom the king Nebuchadnezzar thy father, the king, I say, thy father, made master of the magicians, astrologers, Chaldeans, and soothsayers; %%% waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu: ne mu mirembe gya kitaawo omusana n'okutegeera n'amagezi, ng'amagezi ga bakatonda, byalabikira mu oyo: ne kabaka Nebukadduneeza kitaawo, kabaka, kitaawo, n'amufuula omukulu w'abasawo, n'abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi: 27DAN005.012 Forasmuch as an excellent spirit, and knowledge, and understanding, interpreting of dreams, and shewing of hard sentences, and dissolving of doubts, were found in the same Daniel, whom the king named Belteshazzar: now let Daniel be called, and he will shew the interpretation. %%% kubanga omwoyo omulungi ennyo, n'okumanya, n'okutegeera, n'okulootolola ebirooto, n'okulaga ebigambo eby'ekyama, n'okuzingulula ebyabuusibwabuusibwa, byalabikira mu Danyeri oyo, kabaka gwe yatuuma Berutesazza. Kale bayite Danyeri, naye anaalaga amakulu. 27DAN005.013 Then was Daniel brought in before the king. And the king spake and said unto Daniel, Art thou that Daniel, which art of the children of the captivity of Judah, whom the king my father brought out of Jewry? %%% Awo Danyeri n'alyoka ayingizibwa mu maaso ga kabaka. Kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Ggwe Danyeri oyo, ow'omu baana ab'obunyage bwa Yuda, kabaka kitange be yaggya mu Yuda? 27DAN005.014 I have even heard of thee, that the spirit of the gods is in thee, and that light and understanding and excellent wisdom is found in thee. %%% Nkuwuliddeko, ng'omwoyo gwa bakatonda guli mu ggwe, era ng'omusana n'okutegeera n'amagezi amalungi ennyo birabikira mu ggwe. 27DAN005.015 And now the wise men, the astrologers, have been brought in before me, that they should read this writing, and make known unto me the interpretation thereof: but they could not shew the interpretation of the thing: %%% Ne kaakano abagezigezi, abafumu, bayingizibbwa mu maaso gange, basome okuwandiika okwo, era bantegeeze amakulu gaakwo: naye ne batayinza kulaga makulu ga kigambo ekyo. 27DAN005.016 And I have heard of thee, that thou canst make interpretations, and dissolve doubts: now if thou canst read the writing, and make known to me the interpretation thereof, thou shalt be clothed with scarlet, and have a chain of gold about thy neck, and shalt be the third ruler in the kingdom. %%% Naye ggwe nkuwuliddeko, ng'oyinza okulootolola n'okuzingulula ebibuusibwabuusibwa: kale bw'onooyinza okusoma ebiwandiikiddwa ebyo, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, onooyambazibwa olw'effulungu, era oliba n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, era oliba mukulu ow'okusatu mu bwakabaka. 27DAN005.017 Then Daniel answered and said before the king, Let thy gifts be to thyself, and give thy rewards to another; yet I will read the writing unto the king, and make known to him the interpretation. %%% Awo Danyeri n'addamu n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n'empeera yo ogiwe omulala: era naye naasomera kabaka ebiwandiikiddwa, ne mmutegeeza amakulu. 27DAN005.018 O thou king, the most high God gave Nebuchadnezzar thy father a kingdom, and majesty, and glory, and honour: %%% Ai ggwe kabaka, Katonda Ali waggulu ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, n'obukulu: 27DAN005.019 And for the majesty that he gave him, all people, nations, and languages, trembled and feared before him: whom he would he slew; and whom he would he kept alive; and whom he would he set up; and whom he would he put down. %%% era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna, amawanga, n'ennimi ne bakankana ne batya mu masao ge: yattanga gwe yayagalanga okutta; era yalamyanga gwe yayagalanga okulamya; era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, era yatoowazanga gwe yayagalanga okutoowaza. 27DAN005.020 But when his heart was lifted up, and his mind hardened in pride, he was deposed from his kingly throne, and they took his glory from him: %%% Naye omutima gwe bwe gwegulumiza, n'omwoyo gwe ne gukakanyala bw'atyo n'okukola n'akola eby'amalala, n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, ne bamuggyako ekitiibwa kye: 27DAN005.021 And he was driven from the sons of men; and his heart was made like the beasts, and his dwelling was with the wild asses: they fed him with grass like oxen, and his body was wet with the dew of heaven; till he knew that the most high God ruled in the kingdom of men, and that he appointeth over it whomsoever he will. %%% n'agobebwa okuva mu baana b'abantu: n'omutima gwe ne gufuusibwa ng'ogw'ensolo, n'abeera wamu n'entulege n'aliisibwa omuddo ng'ente, omubiri gwe ne gutoba omusolo ogw'omu ggulu: okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali waggulu ennyo ye afuga mu bwakabaka bw'abantu, era ng'akuza ku bwo buli gw'ayagala. 27DAN005.022 And thou his son, O Belshazzar, hast not humbled thine heart, though thou knewest all this; %%% Naawe omwana we, ai Berusazza, tonnatoowaza mutima gwo, newakubadde nga wamanya ebyo byonna: 27DAN005.023 But hast lifted up thyself against the Lord of heaven; and they have brought the vessels of his house before thee, and thou, and thy lords, thy wives, and thy concubines, have drunk wine in them; and thou hast praised the gods of silver, and gold, of brass, iron, wood, and stone, which see not, nor hear, nor know: and the God in whose hand thy breath is, and whose are all thy ways, hast thou not glorified: %%% naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu: ne baleeta ebintu eby'omu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinywesa omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera: ne Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era nannyini makubo go gonna, tomuwa kitiibwa: 27DAN005.024 Then was the part of the hand sent from him; and this writing was written. %%% ekitundu ky'omukono ne kiryoka kitumibwa okuva mu maaso ge, n'ebiwandiikiddwa ebyo ne biwandiikibwa. 27DAN005.025 And this is the writing that was written, MENE, MENE, TEKEL, UPHARSIN. %%% Era ebiwandiikiddwa bye biibino, nti MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN. 27DAN005.026 This is the interpretation of the thing: MENE; God hath numbered thy kingdom, and finished it. %%% Amakulu g'ekigambo ge gano: MENE; Katonda abaze obwakabaka bwo, era abukomezza. 27DAN005.027 TEKEL; Thou art weighed in the balances, and art found wanting. %%% TEKEL; ogereddwa mu kigera, era olabise nga obulako. 27DAN005.028 PERES; Thy kingdom is divided, and given to the Medes and Persians. %%% PERES; obwakabaka bwo bugabiddwa, buweereddwa eri Abameedi n'Abaperusi. 27DAN005.029 Then commanded Belshazzar, and they clothed Daniel with scarlet, and put a chain of gold about his neck, and made a proclamation concerning him, that he should be the third ruler in the kingdom. %%% Berusazza n'alyoka alagira, ne bayambaza Danyeri olw'effulungu, n'amwambika omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, n'alangirira ku ye nga ye anaabanga omukulu ow'okusatu mu bwakabaka. 27DAN005.030 In that night was Belshazzar the king of the Chaldeans slain. %%% Mu kiro ekyo Berusazza kabaka Omukaludaaya n'attibwa. 27DAN005.031 And Darius the Median took the kingdom, being about threescore and two years old. %%% Daliyo Omumeedi n'aweebwa obwakabaka, bwe yali nga yaakamaze emyaka nga nkaaga mu ebiri. 27DAN006.001 It pleased Darius to set over the kingdom an hundred and twenty princes, which should be over the whole kingdom; %%% Daliyo yalaba nga kirungi okukuza mu bwakabaka abaamasaza kikumi mu abiri, abalibuna obwakabaka bwonna: 27DAN006.002 And over these three presidents; of whom Daniel was first: that the princes might give accounts unto them, and the king should have no damage. %%% nga waggulu waabwe eriyo abakulu basatu, omu ku abo nga ye Danyeri: abaamasaza abo babalenga omusolo mu maaso gaabwe, kabaka aleme okufiirwa. 27DAN006.003 Then this Daniel was preferred above the presidents and princes, because an excellent spirit was in him; and the king thought to set him over the whole realm. %%% Awo Danyeri oyo n'agulumizibwa okusinga abakulu n'abaamasaza, kubanga omwoyo omulungi ennyo gwali mu ye: era kabaka yali alowooza okumuwa okufuga obwakabaka bwonna. 27DAN006.004 Then the presidents and princes sought to find occasion against Daniel concerning the kingdom; but they could find none occasion nor fault; forasmuch as he was faithful, neither was there any error or fault found in him. %%% Abakulu n'abaamasaza ne balyoka banoonya ensonga eneesinga Danyeri mu bigambo eby'obwakabaka: naye ne batayinza kulaba nsonga newakubadde akabi: kubanga yali mwesigwa, so ne watalabika mu ye kwonoona kwonna newakubadde akabi. 27DAN006.005 Then said these men, We shall not find any occasion against this Daniel, except we find it against him concerning the law of his God. %%% Awo abasajja abo ne boogera nti Tetugenda kulaba nsonga eneesinga Danyeri oyo, bwe tutaligiraba eri ye mu bigambo eby'amateeka ga Katonda we. 27DAN006.006 Then these presidents and princes assembled together to the king, and said thus unto him, King Darius, live for ever. %%% Awo abakulu abo n'abaamasaza ne bakuŋŋaana eri kabaka, ne bamugamba bwe bati nti Kabaka Daliyo, obenga omulamu emirembe gyonna. 27DAN006.007 All the presidents of the kingdom, the governors, and the princes, the counsellors, and the captains, have consulted together to establish a royal statute, and to make a firm decree, that whosoever shall ask a petition of any God or man for thirty days, save of thee, O king, he shall be cast into the den of lions. %%% Abakulu bonsatule ab'obwakabaka, abamyuka n'abaamasaza, abakungu n'abafuga, bateesezza wamu okuteeka etteeka lya kabaka, n'okulagira ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng'asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey'empologoma. 27DAN006.008 Now, O king, establish the decree, and sign the writing, that it be not changed, according to the law of the Medes and Persians, which altereth not. %%% Kale, ai kabaka, lagira ekiragiro ekyo, era osse akabonero ko ku biwandiikiddwa ebyo, bireme okuwaanyisibwa, ng'amateeka ag'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka. 27DAN006.009 Wherefore king Darius signed the writing and the decree. %%% Kabaka Daliyo kyeyava assa akabonero ke ku biwandiikiddwa n'ekiragiro. 27DAN006.010 Now when Daniel knew that the writing was signed, he went into his house; and his windows being open in his chamber toward Jerusalem, he kneeled upon his knees three times a day, and prayed, and gave thanks before his God, as he did aforetime. %%% Awo Danyeri bwe yananya ng'ebiwandiikiddwa bissibbwako akabonero, n'ayingira mu myumba ye: (era amadirisa ge gaali gagguddwawo mu nju ye nga goolekedde Yerusaalemi;) n'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, ne yeebaza mu maaso ga Katonda we, nga bwe yakolanga edda. 27DAN006.011 Then these men assembled, and found Daniel praying and making supplication before his God. %%% Awo abasajja abo ne bakuŋŋaana ne basanga Danyeri ng'asaba era nga yeegayirira mu maaso ga Katonda we. 27DAN006.012 Then they came near, and spake before the king concerning the king's decree; Hast thou not signed a decree, that every man that shall ask a petition of any God or man within thirty days, save of thee, O king, shall be cast into the den of lions? The king answered and said, The thing is true, according to the law of the Medes and Persians, which altereth not. %%% Ne balyoka basembera, ne boogera mu maaso ga kabaka ku kiragiro kya kabaka: nti Tewassa kabonero ko ku kiragiro, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng'asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey'empologoma? Kabaka n'addamu n'ayogera nti Ekigambo ekyo kya mazima, ng'amateeka ag'Abameedi n'Abaperusi bwe gali agatajjulukuka. 27DAN006.013 Then answered they and said before the king, That Daniel, which is of the children of the captivity of Judah, regardeth not thee, O king, nor the decree that thou hast signed, but maketh his petition three times a day. %%% Ne balyoka baddamu ne boogerera mu maaso ga kabaka nti Danyeri oyo, ow'omu baana ab'obunyage bwa Yuda, takulowooza, ai kabaka, newakubadde ekiragiro kye wassaako akabonero ko, naye asaba emirundi esatu buli lunaku. 27DAN006.014 Then the king, when he heard these words, was sore displeased with himself, and set his heart on Daniel to deliver him: and he laboured till the going down of the sun to deliver him. %%% Awo kabaka, bwe yawulira ebigambo ebyo, n'anyiiga nnyo, n'ateeka omutima gwe ku Danyeri okumuwonya: n'azibya obudde ng'ategana okumulokola. 27DAN006.015 Then these men assembled unto the king, and said unto the king, Know, O king, that the law of the Medes and Persians is, That no decree nor statute which the king establisheth may be changed. %%% Awo abasajja abo ne bakuŋŋaana eri kabaka, ne bagamba kabaka nti Tegeera, ai kabaka, nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewabanga kiragiro newakubadde etteeka kabaka ly'anyweza eriwaanyisikika. 27DAN006.016 Then the king commanded, and they brought Daniel, and cast him into the den of lions. Now the king spake and said unto Daniel, Thy God whom thou servest continually, he will deliver thee. %%% Kabaka n'alyoka alagira, ne baleeta Danyeri, ne bamusuula mu mpuku ey'empologoma. Kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Katonda wo gw'oweerezanga bulijjo, oyo anaakuwonya. 27DAN006.017 And a stone was brought, and laid upon the mouth of the den; and the king sealed it with his own signet, and with the signet of his lords; that the purpose might not be changed concerning Daniel. %%% Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'empuku: kabaka n'alissaako akabonero ke ye, era n'akabonero ak'abaami be: ekigambo kyonna kireme okuwaanyisibwa eri Danyeri. 27DAN006.018 Then the king went to his palace, and passed the night fasting: neither were instruments of musick brought before him: and his sleep went from him. %%% Kabaka n'alyoka agenda mu lubiri lwe, ekiro ekyo n'atalya mmere: so tebaamuleetera bivuga mu maaso ge: otulo ne tumubula. 27DAN006.019 Then the king arose very early in the morning, and went in haste unto the den of lions. %%% Awo kabaka n'akeera nnyo mu makya n'agolokoka, n'ayanguwa n'agenda ku mpuku ey’empologoma. 27DAN006.020 And when he came to the den, he cried with a lamentable voice unto Daniel: and the king spake and said to Daniel, O Daniel, servant of the living God, is thy God, whom thou servest continually, able to deliver thee from the lions? %%% Era bwe yasembera ku mpuku awali Danyeri, n'ayogererera waggulu n'eddoboozi ery'ennaku: kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Ggwe Danyeri, omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw'oweerezanga bulijjo, ayinza okukuwonya eri empologoma? 27DAN006.021 Then said Daniel unto the king, O king, live for ever. %%% Danyeri n'alyoka agamba kabaka nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna. 27DAN006.022 My God hath sent his angel, and hath shut the lions' mouths, that they have not hurt me: forasmuch as before him innocency was found in me; and also before thee, O king, have I done no hurt. %%% Katonda wange yatumye malayika we, n'aziba emimwa gy'empologoma, ne zitankola bubi: kubanga mu maaso ge nalabika nga siriiko kabi: era ne mu maaso go, ai kabaka, sikolanga kabi. 27DAN006.023 Then was the king exceeding glad for him, and commanded that they should take Daniel up out of the den. So Daniel was taken up out of the den, and no manner of hurt was found upon him, because he believed in his God. %%% Kabaka n'alyoka asanyuka nnyo nnyini, n'alagira okuggyamu Danyeri mu mpuku. Awo Danyeri n'aggibwa mu mpuku, so mpaawo kabi konna akaamulabwako, kubanga yali yeesize Katonda we. 27DAN006.024 And the king commanded, and they brought those men which had accused Daniel, and they cast them into the den of lions, them, their children, and their wives; and the lions had the mastery of them, and brake all their bones in pieces or ever they came at the bottom of the den. %%% Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja abo, abaaloopa Danyeri ne babasuula mu mpuku ey'empologoma, bo, n'abaana baabwe, ne bakazi baabwe: empologoma ne zibayinza, ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna, nga tebannatuuka wansi ddala mu mpuku. 27DAN006.025 Then king Darius wrote unto all people, nations, and languages, that dwell in all the earth; Peace be multiplied unto you. %%% Awo kabaka Daliyo n'alyoka awandiikira abantu bonna, amawanga n'ennimi, abatuula mu nsi zonna: nti Emirembe gyeyongere gye muli. 27DAN006.026 I make a decree, That in every dominion of my kingdom men tremble and fear before the God of Daniel: for he is the living God, and stedfast for ever, and his kingdom that which shall not be destroyed, and his dominion shall be even unto the end. %%% Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange abantu bakankanenga batyenga mu maaso ga Katonda wa Danyeri: kubanga oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa n'okufuga kwe kulituukira ddala ku nkomerero: 27DAN006.027 He delivereth and rescueth, and he worketh signs and wonders in heaven and in earth, who hath delivered Daniel from the power of the lions. %%% awonya era alokola, era akola obubonero n'eby'amagero mu ggulu ne mu nsi: eyawonya Danyeri eri amaanyi g'empologoma. 27DAN006.028 So this Daniel prospered in the reign of Darius, and in the reign of Cyrus the Persian. %%% Bw'atyo Danyeri oyo n'alaba omukisa mu mirembe gya Daliyo, ne mu mirembe gya Kuulo Omuperusi. 27DAN007.001 In the first year of Belshazzar king of Babylon Daniel had a dream and visions of his head upon his bed: then he wrote the dream, and told the sum of the matters. %%% Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Berusazza kabaka w'e Babulooni Danyeri n'aloota ekirooto n'omutwe gwe bye gwayolesebwa ku kitanda kye: n'alyoka awandiika ekirooto n'ayatula ebigambo nga bigattibwa wamu. 27DAN007.002 Daniel spake and said, I saw in my vision by night, and, behold, the four winds of the heaven strove upon the great sea. %%% Danyeri n'ayogera nti Natunuulira mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba, empewo ez'omu ggulu ennya ne ziwamatuka ku nnyanja ennene. 27DAN007.003 And four great beasts came up from the sea, diverse one from another. %%% N'ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja ne zirinnya, ezitafaanana zokka na zokka. 27DAN007.004 The first was like a lion, and had eagle's wings: I beheld till the wings thereof were plucked, and it was lifted up from the earth, and made stand upon the feet as a man, and a man's heart was given to it. %%% Ey'olubereberye yaliŋŋanga mpologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro by'empungu: ne ntunula okutuusa ebiwaawaatiro byayo lwe byamaanyibwa, n'eyimusibwa okuva ku nsi, n'eyimirizibwa n'ebigere bibiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima gw'omuntu. 27DAN007.005 And behold another beast, a second, like to a bear, and it raised up itself on one side, and it had three ribs in the mouth of it between the teeth of it: and they said thus unto it, Arise, devour much flesh. %%% Era, laba ensolo endala, ey'okubiri, yaliŋŋanga ddubu, era yali egulumizibwa ku lubiriizi lumu, n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti Golokoka, olye ennyama ennyingi. 27DAN007.006 After this I beheld, and lo another, like a leopard, which had upon the back of it four wings of a fowl; the beast had also four heads; and dominion was given to it. %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne ntunula, era, laba, endala, ng'engo, eyalina ebiwaawaatiro ebina eby'ennyonyi ku mabega gaayo: era ensolo yalina n'emitwe ena: n'eweebwa okufuga. 27DAN007.007 After this I saw in the night visions, and behold a fourth beast, dreadful and terrible, and strong exceedingly; and it had great iron teeth: it devoured and brake in pieces, and stamped the residue with the feet of it: and it was diverse from all the beasts that were before it; and it had ten horns. %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne ntunula mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ensolo ey'okuna, ey'entiisa era ey'obuyinza, era ey'amaanyi amangi ennyo: era yalina amannyo amanene ag'ekyuma: yalya, n'emenyaamenya, n'esambirira ebyasigalawo n'ebigere byayo: era teyafaanana ng'ensolo zonna ezaagisooka: era yalina amayembe kkumi. 27DAN007.008 I considered the horns, and, behold, there came up among them another little horn, before whom there were three of the first horns plucked up by the roots: and, behold, in this horn were eyes like the eyes of man, and a mouth speaking great things. %%% Nakebera amayembe, era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag'olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe eryo mwalimu amaaso ng'amaaso g'omuntu, n'akamwa akoogera ebikulu. 27DAN007.009 I beheld till the thrones were cast down, and the Ancient of days did sit, whose garment was white as snow, and the hair of his head like the pure wool: his throne was like the fiery flame, and his wheels as burning fire. %%% Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n'omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira; n'enviiri ez'oku mutwe gwe ng'ebyoya by'endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 27DAN007.010 A fiery stream issued and came forth from before him: thousand thousands ministered unto him, and ten thousand times ten thousand stood before him: the judgment was set, and the books were opened. %%% Omugga gw'omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n'enkumi baamuweereza, n'obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 27DAN007.011 I beheld then because of the voice of the great words which the horn spake: I beheld even till the beast was slain, and his body destroyed, and given to the burning flame. %%% Ne ntunula mu biro ebyo olw'eddoboozi ery'ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n'omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n'eweebwayo okwokebwa omuliro. 27DAN007.012 As concerning the rest of the beasts, they had their dominion taken away: yet their lives were prolonged for a season and time. %%% N'ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n'ekiseera. 27DAN007.013 I saw in the night visions, and, behold, one like the Son of man came with the clouds of heaven, and came to the Ancient of days, and they brought him near before him. %%% Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng'omwana w'omuntu n'ebire eby'omu ggulu, n'ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 27DAN007.014 And there was given him dominion, and glory, and a kingdom, that all people, nations, and languages, should serve him: his dominion is an everlasting dominion, which shall not pass away, and his kingdom that which shall not be destroyed. %%% N'aweebwa okufuga, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu bonna, amawenga n'ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw'emirembe gyonna okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa. 27DAN007.015 I Daniel was grieved in my spirit in the midst of my body, and the visions of my head troubled me. %%% Nange Danyeri, omwoyo gwange ne gunakuwala wakati mu mubiri gwange, n'ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ne binneeraliikiriza: 27DAN007.016 I came near unto one of them that stood by, and asked him the truth of all this. So he told me, and made me know the interpretation of the things. %%% Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde okumpi, ne mmubuuza amazima g'ebyo byonna. Awo n'ambuulira, n'antegeeza amakulu g'ebyo. 27DAN007.017 These great beasts, which are four, are four kings, which shall arise out of the earth. %%% Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi. 27DAN007.018 But the saints of the most High shall take the kingdom, and possess the kingdom for ever, even for ever and ever. %%% Naye abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, era balirya obwakabaka emirembe n'emirembe; era n'okutuusa emirembe gyonna. 27DAN007.019 Then I would know the truth of the fourth beast, which was diverse from all the others, exceeding dreadful, whose teeth were of iron, and his nails of brass; which devoured, brake in pieces, and stamped the residue with his feet; %%% Ne ndyoka njagala okumanya amazima g'ensolo ey'okuna, etaafaanana ng'ezo zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo ga kyuma, n'enjala zaayo za kikomo: eyalya, n'emenyaamenya, n'esambirira ebyasigalawo n'ebigere byayo: 27DAN007.020 And of the ten horns that were in his head, and of the other which came up, and before whom three fell; even of that horn that had eyes, and a mouth that spake very great things, whose look was more stout than his fellows. %%% n'agayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, asatu ne gagwa mu maaso gaalyo: lye jjembe eryo eryalina amaaso, n'akamwa akayogera ebikulu, obukanu bwalyo bwasinga gannaago obugumu. 27DAN007.021 I beheld, and the same horn made war with the saints, and prevailed against them; %%% Ne ntunula, ejjembe eryo ne lirwana n'abatukuvu, ne libasinga: 27DAN007.022 Until the Ancient of days came, and judgment was given to the saints of the most High; and the time came that the saints possessed the kingdom. %%% okutuusa omukadde eyaakamala ennaku ennyingi lwe yajja, omusango ne gubasalirwa abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo; ebiro ne bituuka abatukuvu ne balya obwakabaka. 27DAN007.023 Thus he said, The fourth beast shall be the fourth kingdom upon earth, which shall be diverse from all kingdoms, and shall devour the whole earth, and shall tread it down, and break it in pieces. %%% N'ayogera bw'ati nti Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi, obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obulirya ensi zonna, era obulizisambirira, era obulizimenyaamenya. 27DAN007.024 And the ten horns out of this kingdom are ten kings that shall arise: and another shall rise after them; and he shall be diverse from the first, and he shall subdue three kings. %%% N'amayembe ago ekkumi, mu bwakabaka obwo muliva bakabaka kkumi abaligolokoka: n'omulala alibaddirira aligolokoka: naye talifaanana ng'ab'olubereberye, naye aliggyawo bakabaka basatu. 27DAN007.025 And he shall speak great words against the most High, and shall wear out the saints of the most High, and think to change times and laws: and they shall be given into his hand until a time and times and the dividing of time. %%% Era alyogera ebigambo ebibi eri Oyo Ali waggulu ennyo, era aliteganya abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo: era alirowooza okuwaanyisa ebiseera n'amateeka: era biriweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera lwe biriggwaawo. 27DAN007.026 But the judgment shall sit, and they shall take away his dominion, to consume and to destroy it unto the end. %%% Naye omusango gulibaawo, era balimuggyako okufuga kwe, okukumalawo n'okukuzikiriza okutuusa enkomerero. 27DAN007.027 And the kingdom and dominion, and the greatness of the kingdom under the whole heaven, shall be given to the people of the saints of the most High, whose kingdom is an everlasting kingdom, and all dominions shall serve and obey him. %%% N'obwakabaka n'okufuga n'obukulu obw'obwakabaka obuli wansi w'eggulu lyonna, abantu ab'abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza galimuwulira. 27DAN007.028 Hitherto is the end of the matter. As for me Daniel, my cogitations much troubled me, and my countenance changed in me: but I kept the matter in my heart. %%% Ekigambo ekyo we kikoma wano. Nange Danyeri, ebirowoozo byange byanneeraliikiriza nnyo, n'amaaso gange ne gawaanyisibwa gye ndi: naye ne nzisa ekigambo ekyo mu mutima gwange. 27DAN008.001 In the third year of the reign of king Belshazzar a vision appeared unto me, even unto me Daniel, after that which appeared unto me at the first. %%% Mu mwaka ogw'okusatu mu mirembe gya Berusazza kabaka okwolesebwa ne kunjijira, nze Danyeri, okuddirira okwo okwasooka okunjijira. 27DAN008.002 And I saw in a vision; and it came to pass, when I saw, that I was at Shushan in the palace, which is in the province of Elam; and I saw in a vision, and I was by the river of Ulai. %%% Ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa: ne kiba bwe kiti; bwe nnalaba nali mu lubiri lw’e Susani, oluli mu ssaza Eramu: ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa, era nnali ku mugga Ulaayi. 27DAN008.003 Then I lifted up mine eyes, and saw, and, behold, there stood before the river a ram which had two horns: and the two horns were high; but one was higher than the other, and the higher came up last. %%% Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, era, laba, endiga ensajja eyalina amayembe abiri n'eyimirira ku mabbali g'omugga: n'amayembe ago abiri gaali mawanvu: naye erimu lyasinga linnaalyo, era eryasinga lye lyaddirira okumera. 27DAN008.004 I saw the ram pushing westward, and northward, and southward; so that no beasts might stand before him, neither was there any that could deliver out of his hand; but he did according to his will, and became great. %%% Ne ndaba endiga ensajja ng'esindika eri ebugwanjuba, n'eri obukiika obwa kkono, n'eri obukiika obwa ddyo: so mpaawo nsolo ezaayinza okuyimirira mu maaso gaayo, era mpaawo eyayinza okuwonya mu mukono gwayo: naye yakolanga nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza. 27DAN008.005 And as I was considering, behold, an he goat came from the west on the face of the whole earth, and touched not the ground: and the goat had a notable horn between his eyes. %%% Bwe nnali nkebera, laba, embuzi ensajja n'eva ebugwanjuba n'ejja ng'eyita kungulu ku nsi yonna, n'etetuuka ku ttaka: era embuzi yalina ejjembe eryalabika ennyo wakati w'amaaso gaayo. 27DAN008.006 And he came to the ram that had two horns, which I had seen standing before the river, and ran unto him in the fury of his power. %%% N'ejjira endiga ensajja eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga, n'egifubutukira amaanyi gaayo nga gagiralusizza. 27DAN008.007 And I saw him come close unto the ram, and he was moved with choler against him, and smote the ram, and brake his two horns: and there was no power in the ram to stand before him, but he cast him down to the ground, and stamped upon him: and there was none that could deliver the ram out of his hand. %%% Ne ngiraba ng'esemberedde endiga ensajja, n’egisunguwalira, n'ekuba endiga ensajja, n'emenya amayembe gaayo abiri: so n'endiga ensajja teyaliimu maanyi okuyimirira mu maaso gaayo: naye n'egimegga wansi, n'egisambirira, era mpaawo eyayinza okuwonya endiga ensajja mu mukono gwayo. 27DAN008.008 Therefore the he goat waxed very great: and when he was strong, the great horn was broken; and for it came up four notable ones toward the four winds of heaven. %%% Embuzi ensajja ne yeegulumiza nnyo: era mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo ekkulu mwe lyamenyekera: ne mu kifo kyalyo ne mumera ana agaalabika ennyo agaatunuulira empewo ennya ez'omu ggulu. 27DAN008.009 And out of one of them came forth a little horn, which waxed exceeding great, toward the south, and toward the east, and toward the pleasant land. %%% Ne mu limu mu ago ne auva ejjembe ettono, eryafuuka eddene ennyo, nga lyolekedde obukiika obwa ddyo, n'eri obuvanjuba, n'eri ensi ey'ekitiibwa. 27DAN008.010 And it waxed great, even to the host of heaven; and it cast down some of the host and of the stars to the ground, and stamped upon them. %%% Ne lifuuka eddene, n'okutuuka eri eggye ery'omu ggulu: n'eby'omu ggye ebimu n'emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libisambirira. 27DAN008.011 Yea, he magnified himself even to the prince of the host, and by him the daily sacrifice was taken away, and the place of his sanctuary was cast down. %%% Weewaawo, lyekuza lyokka, era n'okutuuka eri omukulu w'eggye: ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna, n'ekifo eky'awatukuvu we ne kisuulibwa. 27DAN008.012 And an host was given him against the daily sacrifice by reason of transgression, and it cast down the truth to the ground; and it practised, and prospered. %%% N'eggye ne liweebwayo eri eryo awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna olw'okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa. 27DAN008.013 Then I heard one saint speaking, and another saint said unto that certain saint which spake, How long shall be the vision concerning the daily sacrifice, and the transgression of desolation, to give both the sanctuary and the host to be trodden under foot? %%% Ne ndyoka mpulira omutukuvu ng'ayogera: n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti Ebikwolesebwa eby'oku kiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna birituusa wa okubaawo, n'okwonoona okuzisa, okuwaayo awatukuvu era n'eggye okusambirirwa n'ebigere? 27DAN008.014 And he said unto me, Unto two thousand and three hundred days; then shall the sanctuary be cleansed. %%% N'aŋŋamba nti Birituusa amakya n'amawungeera enkumi bbiri mu bisatu: awatukuvu ne walyoka walongoosebwa. 27DAN008.015 And it came to pass, when I, even I Daniel, had seen the vision, and sought for the meaning, then, behold, there stood before me as the appearance of a man. %%% Awo, nze, ye nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne ndyoka nnoonya okubitegeera: era, laba, ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng'eky'omuntu. 27DAN008.016 And I heard a man's voice between the banks of Ulai, which called, and said, Gabriel, make this man to understand the vision. %%% Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu wakati w'emitala w'omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne ligamba nti Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo ebimwolesebwa. 27DAN008.017 So he came near where I stood: and when he came, I was afraid, and fell upon my face: but he said unto me, Understand, O son of man: for at the time of the end shall be the vision. %%% Awo n’asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne nvuunama amaaso gange: naye n'aŋŋamba nti Tegeera, ggwe omwana w'omuntu: kubanga ebyolesebwa bya kiseera kya nkomerero. 27DAN008.018 Now as he was speaking with me, I was in a deep sleep on my face toward the ground: but he touched me, and set me upright. %%% Awo, bwe yali ayogera nange, ne nneebaka otulo tungi nga nvuunama amaaso gange: naye n'ankomako, n'annyimiriza. 27DAN008.019 And he said, Behold, I will make thee know what shall be in the last end of the indignation: for at the time appointed the end shall be. %%% N'ayogera nti Laba, naakutegeeza ebiribaawo mu kiseera eky'enkomerero eky'okunyiigiramu: kubanga bya kiseera kya nkomerero ekyateekebwawo. 27DAN008.020 The ram which thou sawest having two horns are the kings of Media and Persia. %%% Endiga ensajja gy'olabye ebadde n'amayembe abiri, be bakabaka ab'Obumeedi n'Obuperusi. 27DAN008.021 And the rough goat is the king of Grecia: and the great horn that is between his eyes is the first king. %%% N'embuzi ensajja ey'ekikuzzi ye kabaka w'e Buyonaani: n'ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo ye kabaka ow'olubereberye. 27DAN008.022 Now that being broken, whereas four stood up for it, four kingdoms shall stand up out of the nation, but not in his power. %%% N'eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne muyimirira ana, obwakabaka buna buliva mu ggwanga, buliyimirira, naye nga tebulina buyinza bw'oyo. 27DAN008.023 And in the latter time of their kingdom, when the transgressors are come to the full, a king of fierce countenance, and understanding dark sentences, shall stand up. %%% Ne mu kiseera eky'enkomerero eky'obwakabaka bwabwe, aboonoonyi nga batuukiridde, kabaka ow'amaaso amakambwe, era ategeera ebigambo eby'ekyama, aliyimirira. 27DAN008.024 And his power shall be mighty, but not by his own power: and he shall destroy wonderfully, and shall prosper, and practise, and shall destroy the mighty and the holy people. %%% N'obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo, era aliraba omukisa, era alikola by'alyagala: era alizikiriza ab'amaanyi n'abantu abatukuvu. 27DAN008.025 And through his policy also he shall cause craft to prosper in his hand; and he shall magnify himself in his heart, and by peace shall destroy many: he shall also stand up against the Prince of princes; but he shall be broken without hand. %%% Era olw'amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w'abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo. 27DAN008.026 And the vision of the evening and the morning which was told is true: wherefore shut thou up the vision; for it shall be for many days. %%% Era ebikwolesebwa eby'amakya n'amawungeera ebibuuliddwa bya mazima: naye ggwe bikka ku bikwolesebwa: kubanga bya nnaku eziri ewala. 27DAN008.027 And I Daniel fainted, and was sick certain days; afterward I rose up, and did the king's business; and I was astonished at the vision, but none understood it. %%% Nange Danyeri ne nzirika, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi; ne ndyoka ngolokoka, ne nkola emirimu gya kabaka: ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye mpaawo eyabitegeera. 27DAN009.001 In the first year of Darius the son of Ahasuerus, of the seed of the Medes, which was made king over the realm of the Chaldeans; %%% Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Daliyo omwana wa Akaswero, ow'ezzadde ery'Abameedi, eyalya obwakabaka obw'Abakaludaaya: 27DAN009.002 In the first year of his reign I Daniel understood by books the number of the years, whereof the word of the LORD came to Jeremiah the prophet, that he would accomplish seventy years in the desolations of Jerusalem. %%% mu mwaka ogw'olubereberye mu mirembe gye nze Danyeri ebitabo ne bintegeeza omuwendo gw'emyaka, Yeremiya nnabbi gye yajjirwako ekigambo kya Mukama, okutuukiriza Yerusaalemi okuzika, gye myaka ensanvu. 27DAN009.003 And I set my face unto the Lord God, to seek by prayer and supplications, with fasting, and sackcloth, and ashes: %%% Ne nteeka amaaso gange eri Mukama Katonda, okunoonya nga nsaba era nga nneegayirira, nga nsiiba enjala era nga nnyambala ebibukutu n'evvu. 27DAN009.004 And I prayed unto the LORD my God, and made my confession, and said, O Lord, the great and dreadful God, keeping the covenant and mercy to them that love him, and to them that keep his commandments; %%% Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula, ne njogera nti Ai Mukama Katonda omukulu era ow'entiisa, atuukiriza endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata amateeka ge: 27DAN009.005 We have sinned, and have committed iniquity, and have done wickedly, and have rebelled, even by departing from thy precepts and from thy judgments: %%% twayonoona, era twakola eby'obubambaavu, n'eby'obubi, era twajeema, nga tukyama okuleka ebiragiro byo n'emisango gyo: 27DAN009.006 Neither have we hearkened unto thy servants the prophets, which spake in thy name to our kings, our princes, and our fathers, and to all the people of the land. %%% so tetwawulira baddu bo bannabbi, abaagambiranga mu linnya lyo bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, n'abantu bonna ab'omu nsi. 27DAN009.007 O LORD, righteousness belongeth unto thee, but unto us confusion of faces, as at this day; to the men of Judah, and to the inhabitants of Jerusalem, and unto all Israel, that are near, and that are far off, through all the countries whither thou hast driven them, because of their trespass that they have trespassed against thee. %%% Ai Mukama, obutuukirivu bwe bubwo, naye ffe amaaso okukwatibwa ensonyi kwe kwaffe, nga leero: abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yerusaalemi, ne Isiraeri yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, mu nsi zonna gye wabagobera, olw'okwonoona kwe baayonoona ggwe. 27DAN009.008 O Lord, to us belongeth confusion of face, to our kings, to our princes, and to our fathers, because we have sinned against thee. %%% Ai Mukama, amaaso okukwatibwa ensonyi kwe kwaffe, bassekabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, kubanga twayonoona ggwe. 27DAN009.009 To the Lord our God belong mercies and forgivenesses, though we have rebelled against him; %%% Mukama Katonda waffe ye alina okusaasira n'okusonyiwa: kubanga twamujeemera: 27DAN009.010 Neither have we obeyed the voice of the LORD our God, to walk in his laws, which he set before us by his servants the prophets. %%% so tetwawulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, okutambulira mu mateeka ge, ge yassa mu maaso gaffe abaddu be bannabbi. 27DAN009.011 Yea, all Israel have transgressed thy law, even by departing, that they might not obey thy voice; therefore the curse is poured upon us, and the oath that is written in the law of Moses the servant of God, because we have sinned against him. %%% Weewaawo, Isiraeri yenna asobezza amateeka go, nga beekooloobya, baleme okuwulira eddoboozi lyo: okukolimirwa kyekwava kutufukirwako, n'ekirayiro ekyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Katonda: kubanga twamwonoona. 27DAN009.012 And he hath confirmed his words, which he spake against us, and against our judges that judged us, by bringing upon us a great evil: for under the whole heaven hath not been done as hath been done upon Jerusalem. %%% Naye yanyweza ebigambo bye, bye yayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe yatuleetera obubi obunene: kubanga wansi w'eggulu lyonna tekikolebwanga nga bwe kyakolebwa ku Yerusaalemi. 27DAN009.013 As it is written in the law of Moses, all this evil is come upon us: yet made we not our prayer before the LORD our God, that we might turn from our iniquities, and understand thy truth. %%% Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe butyo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, tuleke ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, era tubeere n'amagezi mu mazima go. 27DAN009.014 Therefore hath the LORD watched upon the evil, and brought it upon us: for the LORD our God is righteous in all his works which he doeth: for we obeyed not his voice. %%% Mukama kyeyava atunuulira obubi, n'abutuleetako: kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu bikolwa bye byonna by'akola, naffe tetwawulira ddoboozi lye. 27DAN009.015 And now, O Lord our God, that hast brought thy people forth out of the land of Egypt with a mighty hand, and hast gotten thee renown, as at this day; we have sinned, we have done wickedly. %%% Ne kaakano, ai Mukama Katonda waffe, eyaggya abantu bo mu nsi y'e Misiri n'omukono agw'amaanyi, era eyeefunira ekitiibwa, nga leero: twayonoona, twakola bubi. 27DAN009.016 O LORD, according to all thy righteousness, I beseech thee, let thine anger and thy fury be turned away from thy city Jerusalem, thy holy mountain: because for our sins, and for the iniquities of our fathers, Jerusalem and thy people are become a reproach to all that are about us. %%% Ai Mukama, ng'obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n'obukambwe bwekooloobye buve ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu: kubanga olw'okwonoona kwaffe n'olw'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola. 27DAN009.017 Now therefore, O our God, hear the prayer of thy servant, and his supplications, and cause thy face to shine upon thy sanctuary that is desolate, for the Lord's sake. %%% Kale kaakano, ai Katonda waffe, wulira okusaba kw'omuddu wo, n'okwegayirira kwe, era, ku bwa Mukama, oyazike amaaso go awatukuvu wo awazise. 27DAN009.018 O my God, incline thine ear, and hear; open thine eyes, and behold our desolations, and the city which is called by thy name: for we do not present our supplications before thee for our righteousnesses, but for thy great mercies. %%% Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, otunuulire ebyaffe ebyazika, n'ekibuga ekituumibwa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, wabula olw'okusaasira kwo okungi. 27DAN009.019 O Lord, hear; O Lord, forgive; O Lord, hearken and do; defer not, for thine own sake, O my God: for thy city and thy people are called by thy name. %%% Ai Mukama, wulira: ai Mukama, sonyiwa: ai Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ai Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo batuumibwa erinnya lyo. 27DAN009.020 And whiles I was speaking, and praying, and confessing my sin and the sin of my people Israel, and presenting my supplication before the LORD my God for the holy mountain of my God; %%% Awo bwe nnali njogera, era nga nsaba, era nga njatula okwonoona kwange n'okwonoona kw'abantu bange Isiraeri, era nga ndeeta okwegayirira kwange mu maaso ga Mukama Katonda wange olw'olusozi olutukuvu olwa Katonda wange: 27DAN009.021 Yea, whiles I was speaking in prayer, even the man Gabriel, whom I had seen in the vision at the beginning, being caused to fly swiftly, touched me about the time of the evening oblation. %%% weewaawo, bwe nnali njogera mu kusaba, omusajja Gabulyeri, gwe nnalaba mu ebyo bye nnayolesebwa olubereberye, n'abuusibwa mangu, n'ankomako nga mu kiseera ekya ssaddaaka ey'akawungeezi. 27DAN009.022 And he informed me, and talked with me, and said, O Daniel, I am now come forth to give thee skill and understanding. %%% N'anjigiriza, n'ayogera nange, n'agamba nti Ggwe Danyeri, kaakano nfulumye okukugeziwaza mu kutegeera. 27DAN009.023 At the beginning of thy supplications the commandment came forth, and I am come to shew thee; for thou art greatly beloved: therefore understand the matter, and consider the vision. %%% Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale lowooza ekigambo ekyo, otegeere bye wayolesebwa. 27DAN009.024 Seventy weeks are determined upon thy people and upon thy holy city, to finish the transgression, and to make an end of sins, and to make reconciliation for iniquity, and to bring in everlasting righteousness, and to seal up the vision and prophecy, and to anoint the most Holy. %%% Sabbiiti ensanvu ziragiddwa abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okutabaganya olw'obutali butuukirivu, n'okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo, n'okussa akabonero ku ebyo ebyayolesebwa ne ku ebyo ebyalangibwa, n'okufuka amafuta ku oyo asinga obutukuvu. 27DAN009.025 Know therefore and understand, that from the going forth of the commandment to restore and to build Jerusalem unto the Messiah the Prince shall be seven weeks, and threescore and two weeks: the street shall be built again, and the wall, even in troublous times. %%% Kale manya otegeerere ddala nga kasooka ekiragiro kifuluma okuzzaawo n'okuzimba Yerusaalemi okutuusa ku oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo sabbiiti musanvu: era walibaawo sabbiiti nkaaga mu bbiri, n'ekizimbibwa nate, n'oluguudo n'olusalosalo, newakubadde mu biro eby'okutegana. 27DAN009.026 And after threescore and two weeks shall Messiah be cut off, but not for himself: and the people of the prince that shall come shall destroy the city and the sanctuary; and the end thereof shall be with a flood, and unto the end of the war desolations are determined. %%% Era sabbiiti nkaaga mu bbiri bwe ziriggwa, oyo afukibbwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu: n'abantu ab'omulangira alijja balizikiriza ekibuga n'awatukuvu: n'enkomerero ye eriba n'amataba, n'okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzisa kwalagirwa. 27DAN009.027 And he shall confirm the covenant with many for one week: and in the midst of the week he shall cause the sacrifice and the oblation to cease, and for the overspreading of abominations he shall make it desolate, even until the consummation, and that determined shall be poured upon the desolate. %%% Era aliragaana endagaano ennywevu n'abangi okumala ssabbiiti emu: ne mu kitundu ekya ssabbiiti alikomya ssaddaaka n'ekitone: ne ku kiwaawaatiro eky'eby'emizizo kulijjirako oyo alizisa: n'okutuusa byonna okutuukirizibwa, okwo kwe kwalagirwa, obusungu bulifukibwa ku oyo azisa. 27DAN010.001 In the third year of Cyrus king of Persia a thing was revealed unto Daniel, whose name was called Belteshazzar; and the thing was true, but the time appointed was long: and he understood the thing, and had understanding of the vision. %%% Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo kyabikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza; n'ekigambo kyali kya mazima, ze ntalo ennene: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa. 27DAN010.002 In those days I Daniel was mourning three full weeks. %%% Mu nnaku ezo nze Danyeri namala sabbiiti ssatu ennamba nga ndi mu lumbe. 27DAN010.003 I ate no pleasant bread, neither came flesh nor wine in my mouth, neither did I anoint myself at all, till three whole weeks were fulfilled. %%% Saalyanga ku mmere ennungi, so n'ennyama newakubadde omwenge tebyayingiranga mu kamwa kange, so saasaabanga mafuta, ne mmalira ddala ssabbiiti ssatu ennamba. 27DAN010.004 And in the four and twentieth day of the first month, as I was by the side of the great river, which is Hiddekel; %%% Ne ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi ogw'olubereberye, bwe nnali ku mabbali g'omugga omunene, ye Kiddekeri, 27DAN010.005 Then I lifted up mine eyes, and looked, and behold a certain man clothed in linen, whose loins were girded with fine gold of Uphaz: %%% ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula, era laba, omusajja ayambadde bafuta, nga yeesibye ekiwato kye ne zaabu ennungi eya Ufazi: 27DAN010.006 His body also was like the beryl, and his face as the appearance of lightning, and his eyes as lamps of fire, and his arms and his feet like in colour to polished brass, and the voice of his words like the voice of a multitude. %%% era n'omubiri gwe gwali nga berulo, n'obwenyi bwe ng'okumyansa bwe kufaanana, n'amaaso ge ng'ettabaaza z'omuliro, n'emikono gye n'ebigere bye byali ng'ekikomo ekizigule ebbala, n'eddoboozi ly'ebigambo bye ng'eddoboozi ery'ekibiina ekinene. 27DAN010.007 And I Daniel alone saw the vision: for the men that were with me saw not the vision; but a great quaking fell upon them, so that they fled to hide themselves. %%% Nange Danyeri nalaba bye nnayolesebwa nze nzekka: kubanga abantu abaali nange tebaalaba bye nnayolesebwa: naye okukankana okunene ne kubagwako, ne badduka okwekweka. 27DAN010.008 Therefore I was left alone, and saw this great vision, and there remained no strength in me: for my comeliness was turned in me into corruption, and I retained no strength. %%% Awo nze ne nsigala omu ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, so ne mutasigala mu nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange ne bufuuka obuvundu mu nze, ne ssiba na maanyi nate. 27DAN010.009 Yet heard I the voice of his words: and when I heard the voice of his words, then was I in a deep sleep on my face, and my face toward the ground. %%% Era naye ne mpulira eddoboozi ery'ebigambo bye: era bwe nnawulira eddoboozi ery'ebigambo bye nali nneebase otulo tungi nga nvuunamye amaaso gange, amaaso gange nga gatunuulira ettaka. 27DAN010.010 And, behold, an hand touched me, which set me upon my knees and upon the palms of my hands. %%% Era laba, omukono ne gunkwatako, ne gunfukamiza ku maviivi gange n'ebibatu by'engalo zange. 27DAN010.011 And he said unto me, O Daniel, a man greatly beloved, understand the words that I speak unto thee, and stand upright: for unto thee am I now sent. And when he had spoken this word unto me, I stood trembling. %%% N'aŋŋamba nti Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera ebigambo bye nkugamba, weesimbe; kubanga eri ggwe gye ntumiddwa kaakano: era bwe yamala okuŋŋamba ekigambo ekyo, ne nnyimirira nga nkankana. 27DAN010.012 Then said he unto me, Fear not, Daniel: for from the first day that thou didst set thine heart to understand, and to chasten thyself before thy God, thy words were heard, and I am come for thy words. %%% N'alyoka aŋŋamba nti Totya, Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo. 27DAN010.013 But the prince of the kingdom of Persia withstood me one and twenty days: but, lo, Michael, one of the chief princes, came to help me; and I remained there with the kings of Persia. %%% Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza ennaku abiri mu lumu: naye, laba, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba: ne mbeera eyo wamu ne bakabaka ab'e Buperusi. 27DAN010.014 Now I am come to make thee understand what shall befall thy people in the latter days: for yet the vision is for many days. %%% Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu nnaku ez'enkomerero: kubanga bye wayolesebwa bya nnaku ezikyali e wala nate. 27DAN010.015 And when he had spoken such words unto me, I set my face toward the ground, and I became dumb. %%% Era bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nkutama amaaso gange, ne nsirika. 27DAN010.016 And, behold, one like the similitude of the sons of men touched my lips: then I opened my mouth, and spake, and said unto him that stood before me, O my lord, by the vision my sorrows are turned upon me, and I have retained no strength. %%% Era, laba, eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma hu mimwa gyange: ne ndyoka njasama akamwa kange, ne njogera, ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso gange nti Ai mukama wange, olw'ebyo bye nnayolesebwa ennaku zange ne zinziramu, ne siba na maanyi nate. 27DAN010.017 For how can the servant of this my lord talk with this my lord? for as for me, straightway there remained no strength in me, neither is there breath left in me. %%% Kubanga omuddu wa mukama wange ono ayinza atya okwogera ne mukama wange ono? kubanga nze, amangu ago ne mutasigala mu nze maanyi gonna, so n'omukka gwonna ne gutabeera nate mu nze. 27DAN010.018 Then there came again and touched me one like the appearance of a man, and he strengthened me, %%% Eyali ng'ekifaananyi ky'omuntu n'alyoka ankomako nate, oyo n'ampa amaanyi. 27DAN010.019 And said, O man greatly beloved, fear not: peace be unto thee, be strong, yea, be strong. And when he had spoken unto me, I was strengthened, and said, Let my lord speak; for thou hast strengthened me. %%% N'ayogera nti Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya: emirembe gibeere gy'oli, beera n'amaanyi, weewaawo, beera n'amaanyi. Awo bwe yayogera nange, ne mpeebwa amaanyi, ne njogera nti Mukama wange ayogere: kubanga ompadde amaanyi. 27DAN010.020 Then said he, Knowest thou wherefore I come unto thee? and now will I return to fight with the prince of Persia: and when I am gone forth, lo, the prince of Grecia shall come. %%% N'alyoka ayogera nti Omanyi kyenvudde njija gy'oli? ne kaakano naddayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi : era bwe ndivaayo, laba, omulangira ow'e Buyonaani alijja. 27DAN010.021 But I will shew thee that which is noted in the scripture of truth: and there is none that holdeth with me in these things, but Michael your prince. %%% Naye naakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima : so siwali ali ku luuyi lwange okulwanyisa abo, wabula Mikaeri, omulangira wammwe. 27DAN011.001 Also I in the first year of Darius the Mede, even I, stood to confirm and to strengthen him. %%% Nange, mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Daliyo Omumeedi, nayimirira okumunyweza n'okumuwa amaanyi. 27DAN011.002 And now will I shew thee the truth. Behold, there shall stand up yet three kings in Persia; and the fourth shall be far richer than they all: and by his strength through his riches he shall stir up all against the realm of Grecia. %%% Ne kaakano naakulaga amazima. Laba, waliyimirira nate bakabaka abasatu mu Buperusi: n'ow'okuna ye alisingira ddala nnyo bonna obugagga: era bw'alifuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n'obwakabaka obw'e Buyonaani. 27DAN011.003 And a mighty king shall stand up, that shall rule with great dominion, and do according to his will. %%% Ne kabaka ow'amaanyi aliyimirira, alifuga n'obuyinza obungi, era alikola bw'alyagala. 27DAN011.004 And when he shall stand up, his kingdom shall be broken, and shall be divided toward the four winds of heaven; and not to his posterity, nor according to his dominion which he ruled: for his kingdom shall be plucked up, even for others beside those. %%% Era bw'aliyimirira, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu eri empewo ennya ez'omu ggulu: naye tebuligabirwa zzadde lye, so tebuliba ng'okufuga kwe kwe yafuga: kubanga obwakabaka bwe bulisimbulwa, bulisimbulirwa abalala awali abo. 27DAN011.005 And the king of the south shall be strong, and one of his princes; and he shall be strong above him, and have dominion; his dominion shall be a great dominion. %%% Ne kabaka w'obukiika obwa ddyo aliba n'amaanyi, era omu ku bakulu be: n'oyo aliba n'amaanyi okumusinga, alifuga: okufuga kwe kuliba okufuga okunene. 27DAN011.006 And in the end of years they shall join themselves together; for the king's daughter of the south shall come to the king of the north to make an agreement: but she shall not retain the power of the arm; neither shall he stand, nor his arm: but she shall be given up, and they that brought her, and he that begat her, and he that strengthened her in these times. %%% Emyaka bwe girimala okuyitawo balyegatta wamu: n'omuwala wa kabaka w'obukiika obwa ddyo alijja eri kabaka w'obukiika obwa kkono okulagaana: naye omuwala taliba na maanyi ga mukono gwe: so n'oyo taliyimirira, newakubadde omukono gwe: naye omuwala aliweebwayo, n'abo abaamuleeta, n'oyo eyamuzaala, n'oyo eyamuwa amaanyi mu biro ebyo. 27DAN011.007 But out of a branch of her roots shall one stand up in his estate, which shall come with an army, and shall enter into the fortress of the king of the north, and shall deal against them, and shall prevail: %%% Naye mu mwana ow'omu bikolo bye muliva omu aliyimirira mu kifo kye, alijja eri eggye, era aliyingira mu kifo kya kabaka w'obukiika obwa kkono, alibalumba, era aliwangula; 27DAN011.008 And shall also carry captives into Egypt their gods, with their princes, and with their precious vessels of silver and of gold; and he shall continue more years than the king of the north. %%% era ne bakatonda baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, alibinyaga alibitwala mu Misiri: era alimala emyaka egimu ng'aleka kabaka w'obukiika obwa kkono. 27DAN011.009 So the king of the south shall come into his kingdom, and shall return into his own land. %%% Era alijja mu matwale ga kabaka w'obukiika obwa ddyo, naye aliddayo mu nsi ye. 27DAN011.010 But his sons shall be stirred up, and shall assemble a multitude of great forces: and one shall certainly come, and overflow, and pass through: then shall he return, and be stirred up, even to his fortress. %%% N'abaana be balirwana, era balikuŋŋaanya ekibiina ekinene, eggye eringi, eririyitirira, eriryanjaala, ne libayitamu: era balikomawo, balirwana, okutuuka awali ekigo kye. 27DAN011.011 And the king of the south shall be moved with choler, and shall come forth and fight with him, even with the king of the north: and he shall set forth a great multitude; but the multitude shall be given into his hand. %%% Ne kabaka w'obukiika obwa ddyo alisunguwala, alivaayo, alirwana naye, kabaka w'obukiika obwa kkono: era aligaba ekibiina ekinene, n'ekibiina kiriweebwayo mu mukono gwe. 27DAN011.012 And when he hath taken away the multitude, his heart shall be lifted up; and he shall cast down many ten thousands: but he shall not be strengthened by it. %%% N'ekibiina kiryegulumiza, n'omutima gwe gulyeyimusa: era alimegga obukumi obungi, naye taliwangula. 27DAN011.013 For the king of the north shall return, and shall set forth a multitude greater than the former, and shall certainly come after certain years with a great army and with much riches. %%% Ne kabaka w'obukiika obwa kkono alikomawo, era aligaba ekibiina ekisinga eky'olubereberye: era alijja ebiseera bwe biriggwaako, gye myaka, ng'alina eggye eddene n'ebintu ebingi. 27DAN011.014 And in those times there shall many stand up against the king of the south: also the robbers of thy people shall exalt themselves to establish the vision; but they shall fall. %%% Ne mu biro ebyo walibaawo abangi abaliyimirira okulwana ne kabaka w'obukiika obwa ddyo: era n'abaana b'abo abalina ettima mu bantu bo balyegolokosa okunyweza ebikwolesebbwa: naye baligwa. 27DAN011.015 So the king of the north shall come, and cast up a mount, and take the most fenced cities: and the arms of the south shall not withstand, neither his chosen people, neither shall there be any strength to withstand. %%% Awo kabaka w'obukiika obwa kkono alijja, alikuba olusozi, alirya ekibuga ekiriko ebigo ebingi: n'emikono egy'obukiika obwa ddyo tegiribasobola, newakubadde abantu be abalonde, so tewaliba maanyi gonna okubasobola. 27DAN011.016 But he that cometh against him shall do according to his own will, and none shall stand before him: and he shall stand in the glorious land, which by his hand shall be consumed. %%% Naye oyo ajja okumulumba alikola nga bw'ayagala ye, so tewaliba ayimirira mu maaso ge: era aliyimirira mu nsi ey'ekitiibwa, ne mu mukono gwe mulibaamu okuzikiriza. 27DAN011.017 He shall also set his face to enter with the strength of his whole kingdom, and upright ones with him; thus shall he do: and he shall give him the daughter of women, corrupting her: but she shall not stand on his side, neither be for him. %%% Awo alikyusa amaaso ge okujja n'amaanyi ag'obwakabaka bwe bwonna, n'ab'amazima nga bali wamu naye: era alikola by'alyagala: era alimuwa omuwala w'abakazi, okumwonoona: naye taliyimirira, so talimuyamba ye. 27DAN011.018 After this shall he turn his face unto the isles, and shall take many: but a prince for his own behalf shall cause the reproach offered by him to cease; without his own reproach he shall cause it to turn upon him. %%% Oluvannyuma lw'ebyo alikyusa amaaso ge awali ebizinga, aliryako bingi: naye omukulu alikomya ekivume oyo kye yaleeta: era naye alimuddizaayo ekivume kye. 27DAN011.019 Then he shall turn his face toward the fort of his own land: but he shall stumble and fall, and not be found. %%% N'alyoka akyusa amaaso ge awali ebigo eby'omu nsi ye ye: naye alyesittala, aligwa, so talirabika. 27DAN011.020 Then shall stand up in his estate a raiser of taxes in the glory of the kingdom: but within few days he shall be destroyed, neither in anger, nor in battle. %%% Ne walyoka wayimirira mu kifo kye omu aliyisa omusolooza mu kitiibwa eky'obwakabaka: naye mu nnaku si nnyingi alizikirizibwa, si mu busungu, newakubadde mu ntalo. 27DAN011.021 And in his estate shall stand up a vile person, to whom they shall not give the honour of the kingdom: but he shall come in peaceably, and obtain the kingdom by flatteries. %%% Ne mu kifo kye muliyimirira omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby'emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw'okwegonza. 27DAN011.022 And with the arms of a flood shall they be overflown from before him, and shall be broken; yea, also the prince of the covenant. %%% Era n'emikono gy'amataba baliggirwawo ddala mu maaso ge, era balimenyeka: weewaawo, era n'omukulu w'endagaano. 27DAN011.023 And after the league made with him he shall work deceitfully: for he shall come up, and shall become strong with a small people. %%% Era nga bamaze okulagaana naye alikola eby'obukuusa: kubanga alirinnya, era alifuuka ow'amaanyi, ng'alina abantu si bangi. 27DAN011.024 He shall enter peaceably even upon the fattest places of the province; and he shall do that which his fathers have not done, nor his fathers' fathers; he shall scatter among them the prey, and spoil, and riches: yea, and he shall forecast his devices against the strong holds, even for a time. %%% Mu biro eby'emirembe alijjira n'ebifo ebisinga obugimu eby'omu ssaza: era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe: alibagabira omwandu n'omunyago n'obugagga: weewaawo, alisalira enkwe ze ebigo, okumala ekiseera. 27DAN011.025 And he shall stir up his power and his courage against the king of the south with a great army; and the king of the south shall be stirred up to battle with a very great and mighty army; but he shall not stand: for they shall forecast devices against him. %%% Era alisasamaza obuyinza bwe n'obuzira bwe okulwanyisa kabaka w'obukiika obwa ddyo n'eggye eringi: ne kabaka w'obukiika obwa ddyo alirwana entalo n'eggye eringi ennyo, ery'amaanyi amangi: naye taliyimirira, kubanga balimusalira enkwe. 27DAN011.026 Yea, they that feed of the portion of his meat shall destroy him, and his army shall overflow: and many shall fall down slain. %%% Weewaawo, abaalya ku mmere ye be balimuzikiriza, n'eggye lye liryanjaala: era bangi abaligwa nga battibwa. 27DAN011.027 And both these kings' hearts shall be to do mischief, and they shall speak lies at one table; but it shall not prosper: for yet the end shall be at the time appointed. %%% Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balyogera eby'obulimba nga batudde ku mmeeza emu: naye tebiriraba mukisa: kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa era. 27DAN011.028 Then shall he return into his land with great riches; and his heart shall be against the holy covenant; and he shall do exploits, and return to his own land. %%% N'alyoka addayo mu nsi ye n'obugagga obungi: n'omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by'alyagala, n'alyoka addayo mu nsi ye. 27DAN011.029 At the time appointed he shall return, and come toward the south; but it shall not be as the former, or as the latter. %%% Mu biro ebyalagirwa aliddayo, aligenda mu bukiika obwa ddyo: naye mu biro eby'oluvannyuma tekiriba nga bwe kyali mu biro eby'olubereberye: 27DAN011.030 For the ships of Chittim shall come against him: therefore he shall be grieved, and return, and have indignation against the holy covenant: so shall he do; he shall even return, and have intelligence with them that forsake the holy covenant. %%% Kubanga ebyombo eby'e Kittimu birijja okumulumba: kyaliva anakuwala, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by'alyagala: aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu. 27DAN011.031 And arms shall stand on his part, and they shall pollute the sanctuary of strength, and shall take away the daily sacrifice, and they shall place the abomination that maketh desolate. %%% Era emikono giriyimirira ku luuyi lwe, era baligwagwawaza awatukuvu, kye kigo, era baliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna, baliyimiriza eky'omuzizo ekizikiriza. 27DAN011.032 And such as do wickedly against the covenant shall he corrupt by flatteries: but the people that do know their God shall be strong, and do exploits. %%% N'abo abalikola obubi nga baleka endagaano alibakyamyakyamya n'okwegonza: naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n'amaanyi, balikola eby'obuzira. 27DAN011.033 And they that understand among the people shall instruct many: yet they shall fall by the sword, and by flame, by captivity, and by spoil, many days. %%% N'abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi: naye ekitala n'omuliro, okusibibwa n'okunyagibwa, biribagwisa ennaku nnyingi. 27DAN011.034 Now when they shall fall, they shall be holpen with a little help: but many shall cleave to them with flatteries. %%% Awo bwe baligwa, balibeerwa n'okubeerwa okutono: naye bangi abalyegatta nabo n'okwegonza. 27DAN011.035 And some of them of understanding shall fall, to try them, and to purge, and to make them white, even to the time of the end: because it is yet for a time appointed. %%% N'abamu ku abo abalina amagezi baligwa okubawoomya, n'okubalongoosa, n'okubatukuza, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero: kubanga kya kiseera ekyalagirwa ekitannatuuka. 27DAN011.036 And the king shall do according to his will; and he shall exalt himself, and magnify himself above every god, and shall speak marvellous things against the God of gods, and shall prosper till the indignation be accomplished: for that that is determined shall be done. %%% Ne kabaka alikola nga bw'alyagala: era alyegulumiza, alyekuza okusinga katonda yenna, era alyogera eby'ekitalo ku Katonda wa bakatonda: era aliraba omukisa okutuusa obusungu lwe bulituukirira: kubanga ebyateesebwa birikolebwa. 27DAN011.037 Neither shall he regard the God of his fathers, nor the desire of women, nor regard any god: for he shall magnify himself above all. %%% So talirowooza bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza katonda yenna: kubanga alyekuza okusinga bonna. 27DAN011.038 But in his estate shall he honour the God of forces: and a god whom his fathers knew not shall he honour with gold, and silver, and with precious stones, and pleasant things. %%% Naye mu kifo kye aliwa ekitiibwa katonda w'ebigo: era katonda bajjajjaabe gwe bataamanya alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo omungi, n'ebintu ebisanyusa. 27DAN011.039 Thus shall he do in the most strong holds with a strange god, whom he shall acknowledge and increase with glory: and he shall cause them to rule over many, and shall divide the land for gain. %%% Era aliyinza ebigo eby'amaanyi amangi katonda omugenyi ng'amuyamba: buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa: era alibawa okufuga bangi, era aligaba ensi olw'omuwendo. 27DAN011.040 And at the time of the end shall the king of the south push at him: and the king of the north shall come against him like a whirlwind, with chariots, and with horsemen, and with many ships; and he shall enter into the countries, and shall overflow and pass over. %%% Ne mu kiseera eky'enkomerero kabaka w'obukiika obwa ddyo alimusindika: ne kabaka w'obukiika obwa kkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng'alina amagaali, n'abeebagala embalaasi, n'ebyombo ebingi: era aliyingira mu matwale alyanjaala, n'agayitamu. 27DAN011.041 He shall enter also into the glorious land, and many countries shall be overthrown: but these shall escape out of his hand, even Edom, and Moab, and the chief of the children of Ammon. %%% Era aliyingira ne mu nsi ey'ekitiibwa, n'amatwale mangi agalisuulibwa: naye bano baliwonyezebwa mu mukono gwe, Edomu, ne Mowaabu, n'abakulu ab'omu baana ba Amoni. 27DAN011.042 He shall stretch forth his hand also upon the countries: and the land of Egypt shall not escape. %%% Era aligolola omukono gwe ne ku matwale: n'ensi y'e Misiri teriwona. 27DAN011.043 But he shall have power over the treasures of gold and of silver, and over all the precious things of Egypt: and the Libyans and the Ethiopians shall be at his steps. %%% Naye aliyinza ebintu ebitereke ebya zaabu n'ebya ffeeza, n'ebintu byonna eby'omuwendo omungi eby'omu Misiri: n'Abalibya n'Abaesiyopya balimugoberera: 27DAN011.044 But tidings out of the east and out of the north shall trouble him: therefore he shall go forth with great fury to destroy, and utterly to make away many. %%% Naye ebigambo ebiriva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono birimweraliikiriza: era alivaayo nga yeejuumudde nnyo okuzikiriza n'okumalirawo ddala abangi. 27DAN011.045 And he shall plant the tabernacles of his palace between the seas in the glorious holy mountain; yet he shall come to his end, and none shall help him. %%% Era alisimba eweema z'olubiri lwe wakati w'ennyanja n'olusozi olw'ekitiibwa olutukuvu: era naye alijja ku nkomerero ye, so tewaliba amuyamba. 27DAN012.001 And at that time shall Michael stand up, the great prince which standeth for the children of thy people: and there shall be a time of trouble, such as never was since there was a nation even to that same time: and at that time thy people shall be delivered, every one that shall be found written in the book. %%% Era mu biro ebyo Mikayiri aliyimirira, omulangira omukulu ayimiririra abaana b'abantu bo: era waliba ekiseera eky'okunakuwaliramu, ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga okutuusa ku biro ebyo: era mu biro ebyo abantu bo baliwonyezebwa, buli alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo. 27DAN012.002 And many of them that sleep in the dust of the earth shall awake, some to everlasting life, and some to shame and everlasting contempt. %%% Era bangi ku abo abeebaka mu nfuufu ey'oku nsi balizuukuka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okutaggwaawo. 27DAN012.003 And they that be wise shall shine as the brightness of the firmament; and they that turn many to righteousness as the stars for ever and ever. %%% N'abo abalina amagezi balyakaayakana ng'okumasamasa okw'omu bbanga: n'abo abakyusa abangi eri obutuukirivu ng'emmunyeenye emirembe n'emirembe. 27DAN012.004 But thou, O Daniel, shut up the words, and seal the book, even to the time of the end: many shall run to and fro, and knowledge shall be increased. %%% Naye ggwe, Danyeri, bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n'okumanya kulyeyongera. 27DAN012.005 Then I Daniel looked, and, behold, there stood other two, the one on this side of the bank of the river, and the other on that side of the bank of the river. %%% Nze Danyeri ne ndyoka ntunula, era, laba, abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri. 27DAN012.006 And one said to the man clothed in linen, which was upon the waters of the river, How long shall it be to the end of these wonders? %%% N'omu n'agamba omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, nti Eby'ekitalo ebyo birituusa wa okukoma? 27DAN012.007 And I heard the man clothed in linen, which was upon the waters of the river, when he held up his right hand and his left hand unto heaven, and sware by him that liveth for ever that it shall be for a time, times, and an half; and when he shall have accomplished to scatter the power of the holy people, all these things shall be finished. %%% Ne mpulira omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, ng'agolola omukono gwe ogwa ddyo n'omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna, nga birituusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera: era bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo: 27DAN012.008 And I heard, but I understood not: then said I, O my Lord, what shall be the end of these things? %%% Ne mpulira, naye ne sitegeera: ne ndyoka njogera nti Ai Mukama wange, ebiriva mu ebyo biriba bitya? 27DAN012.009 And he said, Go thy way, Daniel: for the words are closed up and sealed till the time of the end. %%% N'ayogera nti Kwata amakubo go Danyeri: kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero. 27DAN012.010 Many shall be purified, and made white, and tried; but the wicked shall do wickedly: and none of the wicked shall understand; but the wise shall understand. %%% Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abaliwoomezebwa: naye ababi balikola ebibi: so ku babi tekuliba abalitegeera: naye abo abalina amagezi balitegeera. 27DAN012.011 And from the time that the daily sacrifice shall be taken away, and the abomination that maketh desolate set up, there shall be a thousand two hundred and ninety days. %%% Era kasooka ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna kiggibwawo, eky'omuzizo ekizikiriza ne kiyimirizibwa, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda. 27DAN012.012 Blessed is he that waiteth, and cometh to the thousand three hundred and five and thirty days. %%% Alina omukisa alindirira n'atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano. 27DAN012.013 But go thou thy way till the end be: for thou shalt rest, and stand in thy lot at the end of the days. %%% Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo: kubanga oliwummula, era oliyimirira mu mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma. 28HOS001.001 The word of the LORD that came unto Hosea, the son of Beeri, in the days of Uzziah, Jotham, Ahaz, and Hezekiah, kings of Judah, and in the days of Jeroboam the son of Joash, king of Israel. %%% Ekigambo kya Mukama ekyajjira Koseya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri. 28HOS001.002 The beginning of the word of the LORD by Hosea. And the LORD said to Hosea, Go, take unto thee a wife of whoredoms and children of whoredoms: for the land hath committed great whoredom, departing from the LORD. %%% Mukama bwe yasooka okwogerera mu Koseya, Mukama n'agamba Koseya nti Genda owase omukazi ow'obwenzi n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obungi, ng'eva ku Mukama. 28HOS001.003 So he went and took Gomer the daughter of Diblaim; which conceived, and bare him a son. %%% Awo n'agenda n'awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu; n'aba olubuto n'amuzaalira omwana wa bulenzi. 28HOS001.004 And the LORD said unto him, Call his name Jezreel; for yet a little while, and I will avenge the blood of Jezreel upon the house of Jehu, and will cause to cease the kingdom of the house of Israel. %%% Mukama n'amugamba nti Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mpalane omusaayi gwa Yezuleeri ku nnyumba ya Yeeku, era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri. 28HOS001.005 And it shall come to pass at that day, that I will break the bow of Israel in the valley of Jezreel. %%% Awo olulituuka ku lunaku olwo ndimenyera omutego gwa Isiraeri mu kiwonvu kya Yezuleeri. 28HOS001.006 And she conceived again, and bare a daughter. And God said unto him, Call her name Loruhamah: for I will no more have mercy upon the house of Israel; but I will utterly take them away. %%% Awo n'aba olubuto nate n'azaala omwana wa buwala. Awo Mukama n'amugamba nti Mutuume erinnya lye Lolukama: kubanga sikyakwatirwa kisa ennyumba ya Isiraeri, mbasonyiwe n'akatono. 28HOS001.007 But I will have mercy upon the house of Judah, and will save them by the LORD their God, and will not save them by bow, nor by sword, nor by battle, by horses, nor by horsemen. %%% Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era ndibalokola ne Mukama Katonda waabwe, so siribalokola na mutego newakubadde ekitala newakubadde olutalo newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde. 28HOS001.008 Now when she had weaned Loruhamah, she conceived, and bare a son. %%% Awo bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n'aba olubuto n’azaala omwana wa bulenzi. 28HOS001.009 Then said God, Call his name Loammi: for ye are not my people, and I will not be your God. %%% Mukama n'ayogera nti Mumutuume erinnya Lowami: kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siriba Katonda wammwe. 28HOS001.010 Yet the number of the children of Israel shall be as the sand of the sea, which cannot be measured nor numbered; and it shall come to pass, that in the place where it was said unto them, Ye are not my people, there it shall be said unto them, Ye are the sons of the living God. %%% Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo mwe baagambirwa nti Mmwe temuli bantu bange, we baligambirwa nti Mmwe muli baana ba Katonda omulamu. 28HOS001.011 Then shall the children of Judah and the children of Israel be gathered together, and appoint themselves one head, and they shall come up out of the land: for great shall be the day of Jezreel. %%% Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omutwe gumu, ne bambuka okuva mu nsi: kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu. 28HOS002.001 Say ye unto your brethren, Ammi; and to your sisters, Ruhamah. %%% Mugambe baganda bammwe nti Ami: era mugambe bannyammwe nti Lukama. 28HOS002.002 Plead with your mother, plead: for she is not my wife, neither am I her husband: let her therefore put away her whoredoms out of her sight, and her adulteries from between her breasts; %%% Muwoze ne nnyammwe, muwoze: kubanga si mukazi wange, so nange siri bba: era aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge; 28HOS002.003 Lest I strip her naked, and set her as in the day that she was born, and make her as a wilderness, and set her like a dry land, and slay her with thirst. %%% nneme okumwambulira ddala, ne mmuteekawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalirwa, ne mmufuula ng'eddungu, ne mmuteekawo ng'ensi enkalu, ne mmussa ennyonta; 28HOS002.004 And I will not have mercy upon her children; for they be the children of whoredoms. %%% weewaawo, abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi. 28HOS002.005 For their mother hath played the harlot: she that conceived them hath done shamefully: for she said, I will go after my lovers, that give me my bread and my water, my wool and my flax, mine oil and my drink. %%% Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi: eyabazaala yawemuka: kubanga yayogera nti Ndigoberera baganzi bange abampa emmere yange n'amazzi gange, ebyoya byange n'obugoogwa bwange, amafuta gange n'ebyange ebyokunywa. 28HOS002.006 Therefore, behold, I will hedge up thy way with thorns, and make a wall, that she shall not find her paths. %%% Kale, laba, ndiziba ekkubo lyo n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba empitiro ze. 28HOS002.007 And she shall follow after her lovers, but she shall not overtake them; and she shall seek them, but shall not find them: then shall she say, I will go and return to my first husband; for then was it better with me than now. %%% Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n'alyoka ayogera nti Naagenda ne nzirayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga kaakano. 28HOS002.008 For she did not know that I gave her corn, and wine, and oil, and multiplied her silver and gold, which they prepared for Baal. %%% Kubanga teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye baaweerezesa Baali. 28HOS002.009 Therefore will I return, and take away my corn in the time thereof, and my wine in the season thereof, and will recover my wool and my flax given to cover her nakedness. %%% Kyendiva nkomyawo eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne nziyawo ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze. 28HOS002.010 And now will I discover her lewdness in the sight of her lovers, and none shall deliver her out of mine hand. %%% Awo kaakano naayolesa obukaba bwe baganzi be nga balaba, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange. 28HOS002.011 I will also cause all her mirth to cease, her feast days, her new moons, and her sabbaths, and all her solemn feasts. %%% Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe kwonna okutukuvu. 28HOS002.012 And I will destroy her vines and her fig trees, whereof she hath said, These are my rewards that my lovers have given me: and I will make them a forest, and the beasts of the field shall eat them. %%% Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde: era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya. 28HOS002.013 And I will visit upon her the days of Baalim, wherein she burned incense to them, and she decked herself with her earrings and her jewels, and she went after her lovers, and forgat me, saith the LORD. %%% Era ndimubonereza olw'ennaku za Babaali be yayoterezanga obubaane; bwe yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be, ne yeerabira nze, bw'ayogera Mukama. 28HOS002.014 Therefore, behold, I will allure her, and bring her into the wilderness, and speak comfortably unto her. %%% Kale, laba, ndimusendasenda, ne mmuleeta mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa. 28HOS002.015 And I will give her her vineyards from thence, and the valley of Achor for a door of hope: and she shall sing there, as in the days of her youth, and as in the day when she came up out of the land of Egypt. %%% Era ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu nga nnyima eyo, n'ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira: era aliyima eyo okuddamu nga mu nnaku ez'obuto bwe, era nga mu nnaku lwe yalinnya okuva mu nsi y'e Misiri. 28HOS002.016 And it shall be at that day, saith the LORD, that thou shalt call me Ishi; and shalt call me no more Baali. %%% Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, olimpita Isi; so tokyampita Baali. 28HOS002.017 For I will take away the names of Baalim out of her mouth, and they shall no more be remembered by their name. %%% Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa amannya gaabwe. 28HOS002.018 And in that day will I make a covenant for them with the beasts of the field, and with the fowls of heaven, and with the creeping things of the ground: and I will break the bow and the sword and the battle out of the earth, and will make them to lie down safely. %%% Awo ku lunaku olwo ndibalagaanira, endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu eby'ettaka ebyewalula: era ndimenya omutego n'ekitala n'olutalo okuva mu nsi, era ndibagalamiza mirembe. 28HOS002.019 And I will betroth thee unto me for ever; yea, I will betroth thee unto me in righteousness, and in judgment, and in lovingkindness, and in mercies. %%% Era ndikwogerereza ennaku zonna; weewaawo, ndikwogereza mu butuukirivu ne mu musango ne mu kisa ne mu kusaasira. 28HOS002.020 I will even betroth thee unto me in faithfulness: and thou shalt know the LORD. %%% Ndikwogereza mu bwesigwa: era olimanya Mukama. 28HOS002.021 And it shall come to pass in that day, I will hear, saith the LORD, I will hear the heavens, and they shall hear the earth; %%% Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiyitaba, bw'ayogera Mukama, ndiyitaba eggulu, nalyo liriyitaba ensi; 28HOS002.022 And the earth shall hear the corn, and the wine, and the oil; and they shall hear Jezreel. %%% n'ensi eriyitaba eŋŋano n'omwenge n'amafuta; nabyo biriyitaba Yezuleeri. 28HOS002.023 And I will sow her unto me in the earth; and I will have mercy upon her that had not obtained mercy; and I will say to them which were not my people, Thou art my people; and they shall say, Thou art my God. %%% Era ndimusiga gye ndi mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti Mmwe muli bantu bange; nabo balyogera nti Ggwe oli Katonda wange. 28HOS003.001 Then said the LORD unto me, Go yet, love a woman beloved of her friend, yet an adulteress, according to the love of the LORD toward the children of Israel, who look to other gods, and love flagons of wine. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe, era omwenzi, era nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala ebitole by'ezabbibu enkalu. 28HOS003.002 So I bought her to me for fifteen pieces of silver, and for an homer of barley, and an half homer of barley: %%% Awo ne mmwegulira ne mmuwasa n'ebitundu ebya ffeeza kkumi n'ebitaano ne komeri eya sayiri ko ekitundu eky'ekomeri eya sayiri: 28HOS003.003 And I said unto her, Thou shalt abide for me many days; thou shalt not play the harlot, and thou shalt not be for another man: so will I also be for thee. %%% ne mmugamba nti Olibeerera awo ku lwange ennaku nnyingi; tolyefuula mwenzi, so toliba muka musajja yenna: nange bwe ndiba bwe ntyo gy'oli. 28HOS003.004 For the children of Israel shall abide many days without a king, and without a prince, and without a sacrifice, and without an image, and without an ephod, and without teraphim: %%% Kubanga abaana ba Isiraeri balibeerera awo ennaku nnyingi nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira so nga tebalina ssaddaaka so nga tebalina mpagi so nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi: 28HOS003.005 Afterward shall the children of Israel return, and seek the LORD their God, and David their king; and shall fear the LORD and his goodness in the latter days. %%% oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja eri Mukama nga batya n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma. 28HOS004.001 Hear the word of the LORD, ye children of Israel: for the LORD hath a controversy with the inhabitants of the land, because there is no truth, nor mercy, nor knowledge of God in the land. %%% Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri: kubanga Mukama alina empaka n'abo abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde okusaasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi. 28HOS004.002 By swearing, and lying, and killing, and stealing, and committing adultery, they break out, and blood toucheth blood. %%% Tewali kintu wabula okulayira n'okumenya endagaano n'okutta n'okubba n'okwenda; bawaguza, n'omusaayi gukoma ku musaayi. 28HOS004.003 Therefore shall the land mourn, and every one that dwelleth therein shall languish, with the beasts of the field, and with the fowls of heaven; yea, the fishes of the sea also shall be taken away. %%% Ensi kyeriva ewuubaala, na buli muntu agituulamu aliyongobera, wamu n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga; weewaawo, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja biriggibwawo. 28HOS004.004 Yet let no man strive, nor reprove another: for thy people are as they that strive with the priest. %%% Era naye waleme okubaawo omuntu awakana so waleme okubaawo anenya: kubanga abantu bo bali ng'abo abawakanya kabona. 28HOS004.005 Therefore shalt thou fall in the day, and the prophet also shall fall with thee in the night, and I will destroy thy mother. %%% Era olyesittala emisana, era ne nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro; era ndizikiriza nnyoko. 28HOS004.006 My people are destroyed for lack of knowledge: because thou hast rejected knowledge, I will also reject thee, that thou shalt be no priest to me: seeing thou hast forgotten the law of thy God, I will also forget thy children. %%% Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya: kubanga ogaanyi okumanya nange ndikugaana ggwe, olemenga okubeera kabona gye ndi: kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo. 28HOS004.007 As they were increased, so they sinned against me: therefore will I change their glory into shame. %%% Nga bwe baayala, bwe batyo bwe bannyonoona: ndiwaanyisa ekitiibwa kyabwe okuba ensonyi. 28HOS004.008 They eat up the sin of my people, and they set their heart on their iniquity. %%% Ekibi ky'abantu bange ye mmere yaabwe, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe. 28HOS004.009 And there shall be, like people, like priest: and I will punish them for their ways, and reward them their doings. %%% Awo olulituuka ng'abantu bwe bali ne kabona bw'atyo: era ndibabonereza olw'amakubo gaabwe, era ndibasasula ebikolwa byabwe. 28HOS004.010 For they shall eat, and not have enough: they shall commit whoredom, and shall not increase: because they have left off to take heed to the LORD. %%% Awo balirya ne batakkuta; balyenda so tebalyala: kubanga baleseeyo okussaayo omwoyo eri Mukama. 28HOS004.011 Whoredom and wine and new wine take away the heart. %%% Obwenzi n'omwenge n'omwenge omusu bimalawo okutegeera. 28HOS004.012 My people ask counsel at their stocks, and their staff declareth unto them: for the spirit of whoredoms hath caused them to err, and they have gone a whoring from under their God. %%% Abantu bange beebuuza ku kikonge kyabwe, n’omuggo gwabwe gwe gubabuulira: kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era bagenze nga benda okuva wansi wa Katonda waabwe. 28HOS004.013 They sacrifice upon the tops of the mountains, and burn incense upon the hills, under oaks and poplars and elms, because the shadow thereof is good: therefore your daughters shall commit whoredom, and your spouses shall commit adultery. %%% Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emyalooni n'emiribine n'emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: bawala bammwe kyebava beefuula benzi, n'abagole bammwe benda. 28HOS004.014 I will not punish your daughters when they commit whoredom, nor your spouses when they commit adultery: for themselves are separated with whores, and they sacrifice with harlots: therefore the people that doth not understand shall fall. %%% Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde bagole bammwe bwe bakabawala; kubanga bo bennyini beeyawula n'abakazi abatambuzi: n'abantu abaategeera balisuulibwa. 28HOS004.015 Though thou, Israel, play the harlot, yet let not Judah offend; and come not ye unto Gilgal, neither go ye up to Bethaven, nor swear, The LORD liveth. %%% Ggwe, Isiraeri, newakubadde nga weefuula omwenzi, naye Yuda aleme okusobya; so temujjanga e Girugaali, so temwambukanga e Besaveni, so temulayiranga nti Nga Mukama bw'ali omulamu. 28HOS004.016 For Israel slideth back as a backsliding heifer: now the LORD will feed them as a lamb in a large place. %%% Kubanga Isiraeri akoze eby'obukakanyavu ng'ente enduusi enkakanyavu: kaakano Mukama alibaliisa ng'omwana gw'endiga mu kifo ekigazi. 28HOS004.017 Ephraim is joined to idols: let him alone. %%% Efulayimu yeegasse n'ebifaananyi; muleke. 28HOS004.018 Their drink is sour: they have committed whoredom continually: her rulers with shame do love, Give ye. %%% Bye banywa bikaatuuse: benda olutata; abakulu be baagala nnyo ensonyi. 28HOS004.019 The wind hath bound her up in her wings, and they shall be ashamed because of their sacrifices. %%% Empewo emusaanikidde mu biwaawaatiro byayo; era balikwatibwa ensonyi olwa ssaddaaka zaabwe. 28HOS005.001 Hear ye this, O priests; and hearken, ye house of Israel; and give ye ear, O house of the king; for judgment is toward you, because ye have been a snare on Mizpah, and a net spread upon Tabor. %%% Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli. 28HOS005.002 And the revolters are profound to make slaughter, though I have been a rebuker of them all. %%% Era abajeemu bagenze nnyo wansi nga batta; naye nze ndi munenya w'abo bonna. 28HOS005.003 I know Ephraim, and Israel is not hid from me: for now, O Ephraim, thou committest whoredom, and Israel is defiled. %%% Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa: kubanga kaakano, ai Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiaeri ayonoonese. 28HOS005.004 They will not frame their doings to turn unto their God: for the spirit of whoredoms is in the midst of them, and they have not known the LORD. %%% Ebikolwa byabwe tebibagaanye kukyukira Katonda waabwe: kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama. 28HOS005.005 And the pride of Israel doth testify to his face: therefore shall Israel and Ephraim fall in their iniquity; Judah also shall fall with them. %%% Era amalala ga Isiraeri gaba mujulirwa gy'ali mu maaso ge: Isiraeri ne Efulayimu kyebaliva beesittala mu butali butuukirivu bwabwe: era ne Yuda alyesittalira wamu nabo. 28HOS005.006 They shall go with their flocks and with their herds to seek the LORD; but they shall not find him; he hath withdrawn himself from them. %%% Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama; naye tebalimulaba: abeeyawuddeko. 28HOS005.007 They have dealt treacherously against the LORD: for they have begotten strange children: now shall a month devour them with their portions. %%% Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana ab'amakiro: kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe. 28HOS005.008 Blow ye the cornet in Gibeah, and the trumpet in Ramah: cry aloud at Bethaven, after thee, O Benjamin. %%% Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama: mulaye eŋŋoma e Besaveni; nti Ennyuma wo, ai Benyamini. 28HOS005.009 Ephraim shall be desolate in the day of rebuke: among the tribes of Israel have I made known that which shall surely be. %%% Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okunenyezebwako: mmanyisizza mu bika bya Isiraeri ebyo ebitalirema kubaawo. 28HOS005.010 The princes of Judah were like them that remove the bound: therefore I will pour out my wrath upon them like water. %%% Abakungu ba Yuda bali ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo: ndifuka obusungu bwange ku bo ng'amazzi. 28HOS005.011 Ephraim is oppressed and broken in judgment, because he willingly walked after the commandment. %%% Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okutambula okugoberera ekiragiro. 28HOS005.012 Therefore will I be unto Ephraim as a moth, and to the house of Judah as rottenness. %%% Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda. 28HOS005.013 When Ephraim saw his sickness, and Judah saw his wound, then went Ephraim to the Assyrian, and sent to king Jareb: yet could he not heal you, nor cure you of your wound. %%% Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka Yalebu: naye tayinza kubawonya, so talibavumula ekiwundu kyammwe. 28HOS005.014 For I will be unto Ephraim as a lion, and as a young lion to the house of Judah: I, even I, will tear and go away; I will take away, and none shall rescue him. %%% Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento eri ennyumba ya Yuda: nze, nze mwene, nditaagula ne nvaawo; nditwalira ddala so tewaliba wa kuwonya. 28HOS005.015 I will go and return to my place, till they acknowledge their offence, and seek my face: in their affliction they will seek me early. %%% Ndigenda ne nzirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange: mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya. 28HOS006.001 Come, and let us return unto the LORD: for he hath torn, and he will heal us; he hath smitten, and he will bind us up. %%% Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga. 28HOS006.002 After two days will he revive us: in the third day he will raise us up, and we shall live in his sight. %%% Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge. 28HOS006.003 Then shall we know, if we follow on to know the LORD: his going forth is prepared as the morning; and he shall come unto us as the rain, as the latter and former rain unto the earth. %%% Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng'enkya: era alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi efukirira ettaka. 28HOS006.004 O Ephraim, what shall I do unto thee? O Judah, what shall I do unto thee? for your goodness is as a morning cloud, and as the early dew it goeth away. %%% Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky'enkya era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali. 28HOS006.005 Therefore have I hewed them by the prophets; I have slain them by the words of my mouth: and thy judgments are as the light that goeth forth. %%% Kyennavanga mbatemya bannabbi; nnabassanga ebigambo eby'omu kamwa kange: n'emisango gyo giriŋŋanga omusana ogufuluma. 28HOS006.006 For I desired mercy, and not sacrifice; and the knowledge of God more than burnt offerings. %%% Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka; n'okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa. 28HOS006.007 But they like men have transgressed the covenant: there have they dealt treacherously against me. %%% Naye bo nga Adamu basobezza endagaano: eyo bankuusizza. 28HOS006.008 Gilead is a city of them that work iniquity, and is polluted with blood. %%% Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi. 28HOS006.009 And as troops of robbers wait for a man, so the company of priests murder in the way by consent: for 0they commit lewdness. %%% Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obukaba. 28HOS006.010 I have seen an horrible thing in the house of Israel: there is the whoredom of Ephraim, Israel is defiled. %%% Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve: obwenzi bulabikidde eyo mu Efulayimu, Isiraeri ayonoonese. 28HOS006.011 Also, O Judah, he hath set an harvest for thee, when I returned the captivity of my people. %%% Era naawe, ai Yuda, ebikungulwa byakuteekerwawo, bwe ndikomyawo obusibe obw'abantu bange. 28HOS007.001 When I would have healed Israel, then the iniquity of Ephraim was discovered, and the wickedness of Samaria: for they commit falsehood; and the thief cometh in, and the troop of robbers spoileth without. %%% Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'obubi bwa Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba: n'omubbi ayingira munda, n'ekibiina eky'abatemu banyagira e bweru. 28HOS007.002 And they consider not in their hearts that I remember all their wickedness: now their own doings have beset them about; they are before my face. %%% So tebalowooza mu mitima gyabwe nga nze njijukira obubi bwabwe bwonna: kaakano ebikolwa byabwe bo bibazingizizza; biri mu maaso gange. 28HOS007.003 They make the king glad with their wickedness, and the princes with their lies. %%% Basanyusa kabaka n'obubi bwabwe, n'abakungu n'eby'obulimba byabwe. 28HOS007.004 They are all adulterers, as an oven heated by the baker, who ceaseth from raising after he hath kneaded the dough, until it be leavened. %%% Bonna benzi; baliŋŋanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekera awo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka. 28HOS007.005 In the day of our king the princes have made him sick with bottles of wine; he stretched out his hand with scorners. %%% Ku lunaku lwa kabaka waffe abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge: yagolola omukono gwe wamu n'abanyoomi. 28HOS007.006 For they have made ready their heart like an oven, whiles they lie in wait: their baker sleepeth all the night; in the morning it burneth as a flaming fire. %%% Kubanga bategese omutima gwabwe ng'akabiga, nga bateega: obusungu bwabwe bwebaka ne bukeesa obudde; enkya bwaka ng'omuliro ogwaka. 28HOS007.007 They are all hot as an oven, and have devoured their judges; all their kings are fallen: there is none among them that calleth unto me. %%% Bonna babugumye ng'akabiga, ne balya abalamuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde: tewali ku bo ankaabira. 28HOS007.008 Ephraim, he hath mixed himself among the people; Ephraim is a cake not turned. %%% Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu mugaati ogutakyusibwa. 28HOS007.009 Strangers have devoured his strength, and he knoweth it not: yea, gray hairs are here and there upon him, yet he knoweth not. %%% Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi: weewaawo, atobese envi, so tamanyi. 28HOS007.010 And the pride of Israel testifieth to his face: and they do not return to the LORD their God, nor seek him for all this. %%% mu maaso ge: era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo. 28HOS007.011 Ephraim also is like a silly dove without heart: they call to Egypt, they go to Assyria. %%% Era Efulayimu aliŋŋanga ejjiba essirusiru eritalina magezi: bakaabira Misiri, bagenda eri Obwasuli. 28HOS007.012 When they shall go, I will spread my net upon them; I will bring them down as the fowls of the heaven; I will chastise them, as their congregation hath heard. %%% Bwe baligenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga: ndibakangavvula ng'ekkuŋŋaaniro lyabwe bwe baawuliranga. 28HOS007.013 Woe unto them! for they have fled from me: destruction unto them! because they have transgressed against me: though I have redeemed them, yet they have spoken lies against me. %%% Zibasanze kubanga bawabye okunvaako; okuzikirira kubatuukeko! kubanga bansobezza: newakubadde nga njagala okubanunula, era naye banjogeddeko eby'obulimba. 28HOS007.014 And they have not cried unto me with their heart, when they howled upon their beds: they assemble themselves for corn and wine, and they rebel against me. %%% So tebankaabidde n'omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe: bakuŋŋaanira eŋŋaano n'omwenge, banjeemera. 28HOS007.015 Though I have bound and strengthened their arms, yet do they imagine mischief against me. %%% Newakubadde nga nayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi. 28HOS007.016 They return, but not to the most High: they are like a deceitful bow: their princes shall fall by the sword for the rage of their tongue: this shall be their derision in the land of Egypt. %%% Bakomawo naye si eri oyo ali waggulu; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'okulaluka kw'olulimi lwabwe: kuno kwe kuliba okusekererwa kwabwe mu nsi y'e Misiri. 28HOS008.001 Set the trumpet to thy mouth. He shall come as an eagle against the house of the LORD, because they have transgressed my covenant, and trespassed against my law. %%% Teeka ekkondeere ku mumwa gwo. Ng'empungu bw'atyo bw'ajja okulumba ennyumba ya Mukama: kubanga basobezza endagaano ne boonoona amateeka gange. 28HOS008.002 Israel shall cry unto me, My God, we know thee. %%% Balinkaabira nti Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi. 28HOS008.003 Israel hath cast off the thing that is good: the enemy shall pursue him. %%% Isiraeri asudde ekirungi: omulabe alibayigganya. 28HOS008.004 They have set up kings, but not by me: they have made princes, and I knew it not: of their silver and their gold have they made them idols, that they may be cut off. %%% Bataddewo bakabaka naye si ku bwange; balonze abakungu nange nga sikimanyi; beekoledde ebifaananyi ne ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe balyoke bamalibwewo. 28HOS008.005 Thy calf, O Samaria, hath cast thee off; mine anger is kindled against them: how long will it be ere they attain to innocency? %%% Asudde ennyana yo, ai Samaliya; obusungu bwange bubaakiddeko: ebiro biryenkana wa okutuusa lwe baliba n'obutayonoona? 28HOS008.006 For from Israel was it also: the workman made it; therefore it is not God: but the calf of Samaria shall be broken in pieces. %%% Kubanga n'ekyo kivudde mu Isiraeri; omukozi ye yakikola, so si Katonda n'akatono: weewaawo, ennyana ya Samaliya erimenyekamenyeka. 28HOS008.007 For they have sown the wind, and they shall reap the whirlwind: it hath no stalk: the bud shall yield no meal: if so be it yield, the strangers shall swallow it up. %%% Kubanga basiga embuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu: talina ŋŋaano emera; ekiti tekiribala mmere; n'okubala bwe kiriba kibaze, bannaggwanga baligiriira ddala. 28HOS008.008 Israel is swallowed up: now shall they be among the Gentiles as a vessel wherein is no pleasure. %%% Isiraeri aliiriddwa ddala: kaakano bali mu mawanga ng'ekibya ekitaliiko bwe kisanyusa. 28HOS008.009 For they are gone up to Assyria, a wild ass alone by himself: Ephraim hath hired lovers. %%% Kubanga bambuse eri Obwasuli ng'entulege eri emu yokka: Efulayimu aguliridde abaganzi. 28HOS008.010 Yea, though they have hired among the nations, now will I gather them, and they shall sorrow a little for the burden of the king of princes. %%% Weewaawo, newakubadde nga bagulirira mu mawanga, kaakano naabakuŋŋaanya; era batanudde okukendeera olw'omugugu gwa kabaka w'abalangira. 28HOS008.011 Because Ephraim hath made many altars to sin, altars shall be unto him to sin. %%% Kubanga Efulayimu ayongedde ebyoto okuleeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy'ali eky'okuleeta okwonoona. 28HOS008.012 I have written to him the great things of my law, but they were counted as a strange thing. %%% Newakubadde nga muwandiikira amateeka gange mu biragiro kakumi, biyitibwa kintu kinnaggwanga. 28HOS008.013 They sacrifice flesh for the sacrifices of mine offerings, and eat it; but the LORD accepteth them not; now will he remember their iniquity, and visit their sins: they shall return to Egypt. %%% Ssaddaaka ez'ebyange ebiweebwayo, bawaayo ennyama okuba ssaddaaka ne bagirya; naye Mukama tabakkiriza: kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe n'abonereza olw'ebibi byabwe; balidda mu Misiri. 28HOS008.014 For Israel hath forgotten his Maker, and buildeth temples; and Judah hath multiplied fenced cities: but I will send a fire upon his cities, and it shall devour the palaces thereof. %%% Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, n'azimba amayumba; era Yuda ayongedde ebibuga ebiriko enkomera: naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo. 28HOS009.001 Rejoice not, O Israel, for joy, as other people: for thou hast gone a whoring from thy God, thou hast loved a reward upon every cornfloor. %%% Tosanyuka, ai Isiraeri, n'essanyu ng'amawanga; kubanga ogenze ng'oyenda okuva ku Katonda wo, weegomba empeera ku buli gguuliro. 28HOS009.002 The floor and the winepress shall not feed them, and the new wine shall fail in her. %%% Egguuliro n'essogolero tebiribaliisa, n'omwenge omusu gulimuggwaako. 28HOS009.003 They shall not dwell in the LORD's land; but Ephraim shall return to Egypt, and they shall eat unclean things in Assyria. %%% Tebalibeera mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era baliriira mu Bwasuli emmere eteri nnongoofu. 28HOS009.004 They shall not offer wine offerings to the LORD, neither shall they be pleasing unto him: their sacrifices shall be unto them as the bread of mourners; all that eat thereof shall be polluted: for their bread for their soul shall not come into the house of the LORD. %%% Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama, so talibasanyukira: ssaddaaka zaabwe ziriba gye bali ng'emmere y'abakungubazi; bonna abanaagiryangako baliba boonoonese: kubanga emmere yaabwe eriba ya kukkutibwa bukkutibwa; teriyingira mu nnyumba ya Mukama. 28HOS009.005 What will ye do in the solemn day, and in the day of the feast of the LORD? %%% Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama? 28HOS009.006 For, lo, they are gone because of destruction: Egypt shall gather them up, Memphis shall bury them: the pleasant places for their silver, nettles shall possess them: thorns shall be in their tabernacles. %%% Kubanga, laba, bagenze okuva awali okuzikirira, era naye Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika: ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa emyennyango giribyemala: amaggwa galiba mu weema zaabwe. 28HOS009.007 The days of visitation are come, the days of recompence are come; Israel shall know it: the prophet is a fool, the spiritual man is mad, for the multitude of thine iniquity, and the great hatred. %%% Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya: nnabbi musirusiru, omusajja alina omwoyo alaluse, olw'olufulube lw'obutali butuukirivu bwo, era kubanga obulabe bungi. 28HOS009.008 The watchman of Ephraim was with my God: but the prophet is a snare of a fowler in all his ways, and hatred in the house of his God. %%% Efulayimu yabanga mukuumi eri Katonda wange: nnabbi, ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda we. 28HOS009.009 They have deeply corrupted themselves, as in the days of Gibeah: therefore he will remember their iniquity, he will visit their sins. %%% Beeyonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ez'e Gibeya: alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe. 28HOS009.010 I found Israel like grapes in the wilderness; I saw your fathers as the firstripe in the fig tree at her first time: but they went to Baalpeor, and separated themselves unto that shame; and their abominations were according as they loved. %%% Nasanga Isiraeri ng'ezabbibu mu ddungu; nalaba bajjajjammwe ng'esooka okwengera ku mutiini mu mwaka gwagwo ogw'olubereberye: naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira ekyo ekikwasa ensonyi, ne bafuuka ab'emizizo ng'ekyo kye bayagala. 28HOS009.011 As for Ephraim, their glory shall fly away like a bird, from the birth, and from the womb, and from the conception. %%% Efulayimu ekitiibwa kyabwe kiribuuka; kirigenda ng'ennyonyi: tewaliba kuzaala newakubadde ali olubuto newakubadde eggwako. 28HOS009.012 Though they bring up their children, yet will I bereave them, that there shall not be a man left: yea, woe also to them when I depart from them! %%% Newakubadde nga balera abaana baabwe; era naye ndibafiisiza, ne wataba muntu asigaddewo: weewaawo, era ziribasanga bwe ndibavaako. 28HOS009.013 Ephraim, as I saw Tyrus, is planted in a pleasant place: but Ephraim shall bring forth his children to the murderer. %%% Efulayimu asimbibwa mu kifo eky'okwesiima, nga bwe nnalaba Ttuulo: naye Efulayimu alifulumya abaana be eri omussi. 28HOS009.014 Give them, O LORD: what wilt thou give? give them a miscarrying womb and dry breasts. %%% Bawe, ai Mukama: oliwa ki? bawe olubuto olutaasa n'amabeere amakalu. 28HOS009.015 All their wickedness is in Gilgal: for there I hated them: for the wickedness of their doings I will drive them out of mine house, I will love them no more: all their princes are revolters. %%% Obubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; kubanga eyo gye nnabakyayira: olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange: siribaagala nate; abakungu baabwe bonna bajeemu. 28HOS009.016 Ephraim is smitten, their root is dried up, they shall bear no fruit: yea, though they bring forth, yet will I slay even the beloved fruit of their womb. %%% Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala: weewaawo newakubadde nga bazaala, era naye nditta ekibala eky'olubuto lwabwe ekyagalwa. 28HOS009.017 My God will cast them away, because they did not hearken unto him: and they shall be wanderers among the nations. %%% Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira: era baliba mmomboze mu mawanga. 28HOS010.001 Israel is an empty vine, he bringeth forth fruit unto himself: according to the multitude of his fruit he hath increased the altars; according to the goodness of his land they have made goodly images. %%% Isiraeri muzabbibu ogwera, oguleeta ebibala byagwo: ng'ebibala bye bwe byali ebingi, bw'atyo bw'ayongedde ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, empagi ze baakola bwe zaabanga ennungi bwe zityo. 28HOS010.002 Their heart is divided; now shall they be found faulty: he shall break down their altars, he shall spoil their images. %%% Omutima gwabwe gwawukanyeemu; kaakano banaalabika omusango nga gubasinze: alikuba ebyoto byabwe, alinyaga empagi zaabwe. 28HOS010.003 For now they shall say, We have no king, because we feared not the LORD; what then should a king do to us? %%% Mazima kaakano banaayogera nti Tetulina kabaka: kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki? 28HOS010.004 They have spoken words, swearing falsely in making a covenant: thus judgment springeth up as hemlock in the furrows of the field. %%% Boogera ebigambo obugambo, nga balayira eby'obulimba mu kulagaana endagaano: omusango kyeguva gumerera mu mbibiro z'ennimiro ng'omususa. 28HOS010.005 The inhabitants of Samaria shall fear because of the calves of Bethaven: for the people thereof shall mourn over it, and the priests thereof that rejoiced on it, for the glory thereof, because it is departed from it. %%% Abali mu Samaliya entiisa eribakwata olw'ennyana ez'e Besaveni: kubanga abantu baakyo balikiwuubaalira, ne bakabona baakyo abaakisanyukira, baliwuubaalira ekitiibwa kyakyo, kubanga kikivuddeko. 28HOS010.006 It shall be also carried unto Assyria for a present to king Jareb: Ephraim shall receive shame, and Israel shall be ashamed of his own counsel. %%% Era nakyo kiritwalibwa e Bwasuli okuba ekirabo kya kabaka Yalebu: Efulayimu aliweebwa ensonyi, ne Isiraeri alikwatirwa ensonyi okuteesa kwe ye. 28HOS010.007 As for Samaria, her king is cut off as the foam upon the water. %%% Samaliya, kabaka waamu azikiridde ng'ejjovu ku mazzi. 28HOS010.008 The high places also of Aven, the sin of Israel, shall be destroyed: the thorn and the thistle shall come up on their altars; and they shall say to the mountains, Cover us; and to the hills, Fall on us. %%% Era n'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birizikirizibwa: amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe; era baligamba ensozi nti Mutubikkeko; n'obusozi nti Mutugweko. 28HOS010.009 O Israel, thou hast sinned from the days of Gibeah: there they stood: the battle in Gibeah against the children of iniquity did not overtake them. %%% Ai Isiraeri, wayonoonanga okuva ku nnaku ez'e Gibeya: baayimirira eyo; olutalo lwe balwana n'abaana ab'obujeemu luleme okubatuukirako mu Gibeya. 28HOS010.010 It is in my desire that I should chastise them; and the people shall be gathered against them, when they shall bind themselves in their two furrows. %%% Bwe ndiba nga njagadde, ndibakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, bwe balisibibwa n'okusobya kwabwe kwombi. 28HOS010.011 And Ephraim is as an heifer that is taught, and loveth to tread out the corn; but I passed over upon her fair neck: I will make Ephraim to ride; Judah shall plow, and Jacob shall break his clods. %%% Era Efulayimu nte nduusi eyigirizibwa, eyagala okusamba eŋŋaano; naye nninnye mu bulago bwe obulungi. Nditeeka ku Efulayimu alimwebagala; Yuda alirima; Yakobo alikuba amavuunike. 28HOS010.012 Sow to yourselves in righteousness, reap in mercy; break up your fallow ground: for it is time to seek the LORD, till he come and rain righteousness upon you. %%% Mwesigire mu butuukirivu, mukungule ng'okusaasira bwe kuli; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime: kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesaako obutuukirivu. 28HOS010.013 Ye have plowed wickedness, ye have reaped iniquity; ye have eaten the fruit of lies: because thou didst trust in thy way, in the multitude of thy mighty men. %%% Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba: kubanga weesiganga ekkubo lyo, olufulube lw'abasajja bo ab'amaanyi. 28HOS010.014 Therefore shall a tumult arise among thy people, and all thy fortresses shall be spoiled, as Shalman spoiled Betharbel in the day of battle: the mother was dashed in pieces upon her children. %%% Okusasamala kyekuliva kubeera mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birinyagibwa, nga Sulumaani bwe yanyaga Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo: nnyaabwe yatandaggirwa wamu n'abaana be. 28HOS010.015 So shall Bethel do unto you because of your great wickedness: in a morning shall the king of Israel utterly be cut off. %%% Era bw'atyo Beseri bw'alibakola olw'obubi bwammwe obwenkanidde awo: emmambya bw'eriba ng'esala, kabaka wa Isiraeri alizikirizibwa ddala. 28HOS011.001 When Israel was a child, then I loved him, and called my son out of Egypt. %%% Isiraeri bwe yali omwana omuto, namwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri. 28HOS011.002 As they called them, so they went from them: they sacrificed unto Baalim, and burned incense to graven images. %%% Nga bwe beeyongera okubayita, bwe batyo bwe beeyongera okubavaako: baawangayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole. 28HOS011.003 I taught Ephraim also to go, taking them by their arms; but they knew not that I healed them. %%% Era naye nayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange; naye tebaamanya nga nze nabawonya. 28HOS011.004 I drew them with cords of a man, with bands of love: and I was to them as they that take off the yoke on their jaws, and I laid meat unto them. %%% Nabawalula n'emigwa egy'omuntu, n'ebisiba eby'okwagala; era nabanga gye bali ng'abo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, ne nteeka emmere mu maaso gaabwe. 28HOS011.005 He shall not return into the land of Egypt, but the Assyrian shall be his king, because they refused to return. %%% Talidda mu nsi y'e Misiri; naye Omwasuli ye aliba kabaka we, kubanga baagaana okudda. 28HOS011.006 And the sword shall abide on his cities, and shall consume his branches, and devour them, because of their own counsels. %%% N'ekitala kirigwa ku bibuga bye, era kirirya ebisiba bye ne kimalawo olw'okuteesa kwabwe bo. 28HOS011.007 And my people are bent to backsliding from me: though they called them to the most High, none at all would exalt him. %%% Era abantu bange bamaliridde okudda ennyuma okunvaako: newakubadde nga babayita okudda eri oyo ali waggulu, tewali n'omu akkiriza okumugulumiza. 28HOS011.008 How shall I give thee up, Ephraim? how shall I deliver thee, Israel? how shall I make thee as Admah? how shall I set thee as Zeboim? mine heart is turned within me, my repentings are kindled together. %%% Naakuwaayo ntya, Efulayimu? naakugabula ntya, Isiraeri? naakufuula ntya nga Aduma? naakussaawo ntya nga Zeboyimu? omutima gwange gukyuse munda yange, okusaasira kwange kwakidde wamu. 28HOS011.009 I will not execute the fierceness of mine anger, I will not return to destroy Ephraim: for I am God, and not man; the Holy One in the midst of thee: and I will not enter into the city. %%% Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siridda kuzikiriza Efulayimu: kubanga nze Katonda so siri muntu; Omutukuvu ali wakati wo: so siriyingira mu kibuga. 28HOS011.010 They shall walk after the LORD: he shall roar like a lion: when he shall roar, then the children shall tremble from the west. %%% Balitambula okugoberera Mukama, naye aliwuluguma ng'empologoma: kubanga aliwuluguma, n'abaana abato balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba. 28HOS011.011 They shall tremble as a bird out of Egypt, and as a dove out of the land of Assyria: and I will place them in their houses, saith the LORD. %%% Balijja nga bakankana ng'ennyonyi eva mu Misiri, era ng'ejjiba eriva mu nsi y'e Bwasuli: era ndibatuuza mu nnyumba zaabwe, bw'ayogera Mukama. 28HOS011.012 Ephraim compasseth me about with lies, and the house of Israel with deceit: but Judah yet ruleth with God, and is faithful with the saints. %%% Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa: naye Yuda akyafuga awali Katonda, era mwesigwa awali Omutukuvu. 28HOS012.001 Ephraim feedeth on wind, and followeth after the east wind: he daily increaseth lies and desolation; and they do make a covenant with the Assyrians, and oil is carried into Egypt. %%% Efulayimu alya mpewo, era agoberera empewo ez'ebuvanjuba: tata kwongera bya bulimba na kuziika; era balagaana endagaano n'Obwasuli, n'amafuta gatwalibwa mu Misiri. 28HOS012.002 The LORD hath also a controversy with Judah, and will punish Jacob according to his ways; according to his doings will he recompense him. %%% Era Mukama alina empaka ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng'amakubo ge bwe gali; alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri. 28HOS012.003 He took his brother by the heel in the womb, and by his strength he had power with God: %%% Mu lubuto yamukwata muganda we ku kisinziiro; era bwe yakula n'aba n'obuyinza eri Katonda: 28HOS012.004 Yea, he had power over the angel, and prevailed: he wept, and made supplication unto him: he found him in Bethel, and there he spake with us; %%% weewaawo, yabanga n'obuyinza ku malayika n'awangula: yakaaba amaziga n'amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe; 28HOS012.005 Even the LORD God of hosts; the LORD is his memorial. %%% Mukama Katonda ow'eggye; Mukama kye kijjukizo kye. 28HOS012.006 Therefore turn thou to thy God: keep mercy and judgment, and wait on thy God continually. %%% Kale kyukira Katonda wo: okwatanga okusaasira n'omusango, omulindiriranga Katonda wo ennaku zonna. 28HOS012.007 He is a merchant, the balances of deceit are in his hand: he loveth to oppress. %%% Musuubuzi, minzaani ey'obulimba eri mu mukono gwe: ayagala okujooga. 28HOS012.008 And Ephraim said, Yet I am become rich, I have found me out substance: in all my labours they shall find none iniquity in me that were sin. %%% Efulayimu n'ayogera nti Mazima ngaggawadde, nneefunidde ebintu: mu kutegana kwange kwonna tebalindabako butali butuukirivu bwonna obwandibadde ekibi. 28HOS012.009 And I that am the LORD thy God from the land of Egypt will yet make thee to dwell in tabernacles, as in the days of the solemn feast. %%% Naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; oliboolyawo ne nkutuuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ey'okwewombeekerako. 28HOS012.010 I have also spoken by the prophets, and I have multiplied visions, and used similitudes, by the ministry of the prophets. %%% Era nayogeranga ne bannabbi, era nnyongedde okwolesebwa; era nagereranga engero mu mukono gwa bannabbi. 28HOS012.011 Is there iniquity in Gilead? surely they are vanity: they sacrifice bullocks in Gilgal; yea, their altars are as heaps in the furrows of the fields. %%% Gireyaadi butali butuukirivu? bo butaliimu bwereere; mu Girugaali gye basalira ente okuba ssaddaaka: weewaawo, ebyoto byabwe biri ng'ebifunvu mu mbibiro z'ennimiro: 28HOS012.012 And Jacob fled into the country of Syria, and Israel served for a wife, and for a wife he kept sheep. %%% Awo Yakobo n'addukira mu nnimiro ya Alamu, Isiraeri n'aweereza omukazi, era n'alundira omukazi. 28HOS012.013 And by a prophet the LORD brought Israel out of Egypt, and by a prophet was he preserved. %%% Era Mukama n'aggya Isiraeri mu Misiri ku bwa nnabbi, era nnabbi ye yamuwonya. 28HOS012.014 Ephraim provoked him to anger most bitterly: therefore shall he leave his blood upon him, and his reproach shall his LORD return unto him. %%% Efulayimu asunguwazizza nnyo nnyini: omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, n'ekivume kye Mukama we alikimusasula. 28HOS013.001 When Ephraim spake trembling, he exalted himself in Israel; but when he offended in Baal, he died. %%% Efulayimu bwe yayogera, ne wabaawo okukankana; yeegulumiza mu Isiraeri: naye bwe yayonoona olwa Baali, n'afa. 28HOS013.002 And now they sin more and more, and have made them molten images of their silver, and idols according to their own understanding, all of it the work of the craftsmen: they say of them, Let the men that sacrifice kiss the calves. %%% Awo kaakano beeyongerayongera okwonoona, era beekoledde ebifaananyi ebisaanuuse ne ffeeza yaabwe, esanamu ng'amagezi gaabwe bo bwe gali, zonna mulimu gwa mukozi: bazoogerako nti Abasajja abasala ssaddaaka banywegere ennyana. 28HOS013.003 Therefore they shall be as the morning cloud, and as the early dew that passeth away, as the chaff that is driven with the whirlwind out of the floor, and as the smoke out of the chimney. %%% Kyebaliva babeera ng'ekire eky'enkya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali, ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zitwala okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguva mu kituli ogufuluma. 28HOS013.004 Yet I am the LORD thy God from the land of Egypt, and thou shalt know no god but me: for there is no saviour beside me. %%% Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wazira nze. 28HOS013.005 I did know thee in the wilderness, in the land of great drought. %%% Nakumanyira mu ddungu, mu nsi ey'ennyonta ennyingi. 28HOS013.006 According to their pasture, so were they filled; they were filled, and their heart was exalted; therefore have they forgotten me. %%% Ng'eddundiro lyabwe bwe lyabanga, bwe bakkutanga bwe batyo; bakkuta, omutina gwabwe ne gwegulumiza; kyebavudde banneerabira nze. 28HOS013.007 Therefore I will be unto them as a lion: as a leopard by the way will I observe them: %%% Kyenvudde mbeera gye bali ng'empologoma: ng'engo nditeegera mu kkubo: 28HOS013.008 I will meet them as a bear that is bereaved of her whelps, and will rend the caul of their heart, and there will I devour them like a lion: the wild beast shall tear them. %%% ndisisinkana nabo ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza olubiko olw'oku mutima gwabwe: era ndibaliira eyo ng'empologoma; ensolo ey'omu nsiko eribataagula. 28HOS013.009 O Israel, thou hast destroyed thyself; but in me is thine help. %%% Kwe kuzikirira kwo, ai Isiraeri, kubanga oli mulabe wange, omulabe w'omubeezi wo. 28HOS013.010 I will be thy king: where is any other that may save thee in all thy cities? and thy judges of whom thou saidst, Give me a king and princes? %%% Kabaka wo nno ali ludda wa, akulokole mu bibuga byo byonna? n'abalamuzi bo be wayogerako nti Mpa kabaka n'abakungu? 28HOS013.011 I gave thee a king in mine anger, and took him away in my wrath. %%% Nkuwadde kabaka nga ndiko obusungu, era mmuggyeewo nga ndiko ekiruyi. 28HOS013.012 The iniquity of Ephraim is bound up; his sin is hid. %%% Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa. 28HOS013.013 The sorrows of a travailing woman shall come upon him: he is an unwise son; for he should not stay long in the place of the breaking forth of children. %%% Obubalagaze bw'omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako: ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa. 28HOS013.014 I will ransom them from the power of the grave; I will redeem them from death: O death, I will be thy plagues; O grave, I will be thy destruction: repentance shall be hid from mine eyes. %%% Ndibanunula eri amaanyi ag'amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? okwenenya kulikwekebwa amaaso gange. 28HOS013.015 Though he be fruitful among his brethren, an east wind shall come, the wind of the LORD shall come up from the wilderness, and his spring shall become dry, and his fountain shall be dried up: he shall spoil the treasure of all pleasant vessels. %%% Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, omukka gwa Mukama ogulinnya okuva mu ddungu, oluzzi lwe ne lukalira, ensulo ye n'eggwaawo: alinyaga ebibya byonna ebisanyusa ebyaterekebwa. 28HOS013.016 Samaria shall become desolate; for she hath rebelled against her God: they shall fall by the sword: their infants shall be dashed in pieces, and their women with child shall be ripped up. %%% Samaliya alibaako omusango gwe; kubanga ajeemedde Katonda we: baligwa n'ekitala; abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa. 28HOS014.001 O Israel, return unto the LORD thy God; for thou hast fallen by thine iniquity. %%% Ai Isiraeri, komawo eri Mukama Katonda wo; kubanga ogudde olw'obutali butuukirivu bwo. 28HOS014.002 Take with you words, and turn to the LORD: say unto him, Take away all iniquity, and receive us graciously: so will we render the calves of our lips. %%% Mutwale ebigambo wamu nammwe, mukomewo eri Mukama: mumugambe nti Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky'omu mimwa gyaffe, ng'ente ennume. 28HOS014.003 Asshur shall not save us; we will not ride upon horses: neither will we say any more to the work of our hands, Ye are our gods: for in thee the fatherless findeth mercy. %%% Asuli talituwonya; tetulyebagala embalaasi: so tetuligamba nate mulimu gwa mikono gyaffe nti Mmwe muli bakatonda baffe: kubanga eri ggwe atalina kitaawe gy'alabira okusaasirwa. 28HOS014.004 I will heal their backsliding, I will love them freely: for mine anger is turned away from him. %%% Ndiwonya okudda kwabwe ennyuma, ndibaagala ku bwange: kubanga obusungu bwange bukyuse okumuvaako. 28HOS014.005 I will be as the dew unto Israel: he shall grow as the lily, and cast forth his roots as Lebanon. %%% Ndiba eri Isiraeri ng'omusulo: alimulisa ng'eddanga, era alisimba emizi gye nga Lebanooni. 28HOS014.006 His branches shall spread, and his beauty shall be as the olive tree, and his smell as Lebanon. %%% Amatabi ge galiranda, n'obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni. 28HOS014.007 They that dwell under his shadow shall return; they shall revive as the corn, and grow as the vine: the scent thereof shall be as the wine of Lebanon. %%% Ababeera wansi w'ekisiikirize kye balikomawo; balirama ng'eŋŋaano, ne bamulisa ng'omuzabbibu: akawoowo ke kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni. 28HOS014.008 Ephraim shall say, What have I to do any more with idols? I have heard him, and observed him: I am like a green fir tree. From me is thy fruit found. %%% Efulayimu alyogera nti Nkyafaayo ki eri ebifaananyi? Nze njitabye, era ndissaayo omwoyo eri ye: nninga omuberosi omugimu; ebibala byo birabika okuva gye ndi. 28HOS014.009 Who is wise, and he shall understand these things? prudent, and he shall know them? for the ways of the LORD are right, and the just shall walk in them: but the transgressors shall fall therein. %%% Ani alina amagezi n'ategeera bino? ani alina obukabakaba n'abimanya? kubanga amakubo ga Mukama ga nsonga, n'abatuukirivu banaagatambulirangamu; naye abasobya banaagwanga omwo. 29JOE001.001 The word of the LORD that came to Joel the son of Pethuel. %%% Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri. 29JOE001.002 Hear this, ye old men, and give ear, all ye inhabitants of the land. Hath this been in your days, or even in the days of your fathers? %%% Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe oba mu biro bya bajjajjammwe? 29JOE001.003 Tell ye your children of it, and let your children tell their children, and their children another generation. %%% Mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe babuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe ab'emirembe emirala. 29JOE001.004 That which the palmerworm hath left hath the locust eaten; and that which the locust hath left hath the cankerworm eaten; and that which the cankerworm hath left hath the caterpiller eaten. %%% Ebyo akawuka bye kafissizzaawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye yafissizzawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde. 29JOE001.005 Awake, ye drunkards, and weep; and howl, all ye drinkers of wine, because of the new wine; for it is cut off from your mouth. %%% Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu; kubanga gumaliddwawo okuva ku kamwa kammwe. 29JOE001.006 For a nation is come up upon my land, strong, and without number, whose teeth are the teeth of a lion, and he hath the cheek teeth of a great lion. %%% Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ery'amaanyi eritabalika: amannyo ge mannyo ga mpologoma, era alina amasongezo ag'empologoma enkulu. 29JOE001.007 He hath laid my vine waste, and barked my fig tree: he hath made it clean bare, and cast it away; the branches thereof are made white. %%% Azisizza omuzabbibu gwange, era asasambudde omutiini gwange: agusasambulidde ddala, era agusudde wala; amatabi gaagwo gafuuse meeru. 29JOE001.008 Lament like a virgin girded with sackcloth for the husband of her youth. %%% Kungubaga ng'omuwala ey'esibye ebibukutu bw'akungubagira bba ow'omu buwala bwe. 29JOE001.009 The meat offering and the drink offering is cut off from the house of the LORD; the priests, the LORD's ministers, mourn. %%% Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddiwawo okuva mu nnyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala. 29JOE001.010 The field is wasted, the land mourneth; for the corn is wasted: the new wine is dried up, the oil languisheth. %%% Ennimiro ezise, ensi ewuubaala; kubanga eŋŋaano ezise, omwenge omusu gukaze, amafuta gaggweerera. 29JOE001.011 Be ye ashamed, O ye husbandmen; howl, O ye vinedressers, for the wheat and for the barley; because the harvest of the field is perished. %%% Mukwatibwe ensonyi, mmwe abalimi, muwowoggane, mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bifudde. 29JOE001.012 The vine is dried up, and the fig tree languisheth; the pomegranate tree, the palm tree also, and the apple tree, even all the trees of the field, are withered: because joy is withered away from the sons of men. %%% Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera; omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro, giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b'abantu. 29JOE001.013 Gird yourselves, and lament, ye priests: howl, ye ministers of the altar: come, lie all night in sackcloth, ye ministers of my God: for the meat offering and the drink offering is withholden from the house of your God. %%% Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'ekyoto; mujje mugalamire nga mwambadde ebibukutu mukeese obudde, mmwe abaweereza ba Katonda wange: kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa baguguba nabyo eri ennyumba ya Katonda wammwe. 29JOE001.014 Sanctify ye a fast, call a solemn assembly, gather the elders and all the inhabitants of the land into the house of the LORD your God, and cry unto the LORD. %%% Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi eri ennyumba ya Mukama Katonda wammwe, mumukaabire Mukama. 29JOE001.015 Alas for the day! for the day of the LORD is at hand, and as a destruction from the Almighty shall it come. %%% Zitusanze olw'olunaku kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna. 29JOE001.016 Is not the meat cut off before our eyes, yea, joy and gladness from the house of our God? %%% Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, weewaawo, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe? 29JOE001.017 The seed is rotten under their clods, the garners are laid desolate, the barns are broken down; for the corn is withered. %%% Ensigo zivunda wansi w'amafunfugu gaazo; amawanika galekeddwawo, amaterekero gasuuliddwa; kubanga eŋŋaano ewotose. 29JOE001.018 How do the beasts groan! the herds of cattle are perplexed, because they have no pasture; yea, the flocks of sheep are made desolate. %%% Ensolo nga zisinda! amagana g'ente gabuliddwa amagezi, kubanga tezirina muddo; weewaawo, ebisibo by'endiga birekeddwawo. 29JOE001.019 O LORD, to thee will I cry: for the fire hath devoured the pastures of the wilderness, and the flame hath burned all the trees of the field. %%% Ai Mukama, ggwe nkaabira: kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro. 29JOE001.020 The beasts of the field cry also unto thee: for the rivers of waters are dried up, and the fire hath devoured the pastures of the wilderness. %%% Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira: kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu. 29JOE002.001 Blow ye the trumpet in Zion, and sound an alarm in my holy mountain: let all the inhabitants of the land tremble: for the day of the LORD cometh, for it is nigh at hand; %%% Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mulayize ku lusozi lwange olutukuvu; bonna abali mu nsi bakankane: kubanga olunaku lwa Mukama lujja, kubanga luli kumpi; 29JOE002.002 A day of darkness and of gloominess, a day of clouds and of thick darkness, as the morning spread upon the mountains: a great people and a strong; there hath not been ever the like, neither shall be any more after it, even to the years of many generations. %%% olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte, ng'emmambya bw'esalira ku nsozi; eggwanga eddene era ery'amaanyi, tewabangawo eribenkana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okutuusa ku myaka egy'emirembe emingi. 29JOE002.003 A fire devoureth before them; and behind them a flame burneth: the land is as the garden of Eden before them, and behind them a desolate wilderness; yea, and nothing shall escape them. %%% Omuliro gwokya mu maaso gaabwe; era ennyuma waabwe ennimi z'omuliro zaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'e nnyuma yaabwe ddungu eryazika so naye tewali eyali abawonye. 29JOE002.004 The appearance of them is as the appearance of horses; and as horsemen, so shall they run. %%% Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeebagadde embalaasi bwe baddukana bwe batyo embiro: 29JOE002.005 Like the noise of chariots on the tops of mountains shall they leap, like the noise of a flame of fire that devoureth the stubble, as a strong people set in battle array. %%% Babuuka nga bawuuma ng'amagaali bwe gawuumira ku ntikko z'ensozi, ng'omuliro bwe guwuuma ogwokya ensambu ng'eggwanga ery'amaanyi erisimbye ennyiriri olw'olutalo. 29JOE002.006 Before their face the people shall be much pained: all faces shall gather blackness. %%% Olw'okujja kwabwe abantu babalagalwa amaaso gonna gafuuse ebbala. 29JOE002.007 They shall run like mighty men; they shall climb the wall like men of war; and they shall march every one on his ways, and they shall not break their ranks: %%% Badduka mbiro ng'abasajja ab'amaanyi; balinnya bbugwe ng'abasajja abalwanyi; era basimba buli muntu mu kkubo lye, so tebasobya nnyiriri. 29JOE002.008 Neither shall one thrust another; they shall walk every one in his path: and when they fall upon the sword, they shall not be wounded. %%% So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwanyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe. 29JOE002.009 They shall run to and fro in the city; they shall run upon the wall, they shall climb up upon the houses; they shall enter in at the windows like a thief. %%% Babuuka bagwa ku kibuga; bafubutukira ku bbugwe; bawalampa ne batuuka mu nnyumba; bayingirira mu madirisa ng'omubbi. 29JOE002.010 The earth shall quake before them; the heavens shall tremble: the sun and the moon shall be dark, and the stars shall withdraw their shining: %%% Ettaka likankana mu maaso gaabwe; eggulu lijugumira, enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza n'emmunyeeye zirekayo okwaka kwazo: 29JOE002.011 And the LORD shall utter his voice before his army: for his camp is very great: for he is strong that executeth his word: for the day of the LORD is great and very terrible; and who can abide it? %%% era Mukama aleeta eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye kubanga olusiisira lwe lunene nnyo kubanga oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi: kubanga olunaku lwa Mukama lukulu, lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola? 29JOE002.012 Therefore also now, saith the LORD, turn ye even to me with all your heart, and with fasting, and with weeping, and with mourning: %%% Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala: 29JOE002.013 And rend your heart, and not your garments, and turn unto the LORD your God: for he is gracious and merciful, slow to anger, and of great kindness, and repenteth him of the evil. %%% era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi. 29JOE002.014 Who knoweth if he will return and repent, and leave a blessing behind him; even a meat offering and a drink offering unto the LORD your God? %%% Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa n'aleka omukisa ennyuma we, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wammwe? 29JOE002.015 Blow the trumpet in Zion, sanctify a fast, call a solemn assembly: %%% Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu: 29JOE002.016 Gather the people, sanctify the congregation, assemble the elders, gather the children, and those that suck the breasts: let the bridegroom go forth of his chamber, and the bride out of her closet. %%% mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato n'abo abayonka amabeere: awasa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nju ye. 29JOE002.017 Let the priests, the ministers of the LORD, weep between the porch and the altar, and let them say, Spare thy people, O LORD, and give not thine heritage to reproach, that the heathen should rule over them: wherefore should they say among the people, Where is their God? %%% Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, amawanga okubafuga: kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti Katonda waabwe ali ludda wa? 29JOE002.018 Then will the LORD be jealous for his land, and pity his people. %%% Awo Mukama n'akwatirwa obuggya ensi ye, n'asaasira abantu be. 29JOE002.019 Yea, the LORD will answer and say unto his people, Behold, I will send you corn, and wine, and oil, and ye shall be satisfied therewith: and I will no more make you a reproach among the heathen: %%% Awo Mukama n'addamu n’agamba abantu be nti Laba, ndibaweereza eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, era biribakkusa: 29JOE002.020 But I will remove far off from you the northern army, and will drive him into a land barren and desolate, with his face toward the east sea, and his hinder part toward the utmost sea, and his stink shall come up, and his ill savour shall come up, because he hath done great things. %%% so siribafuula nate ekivume mu mawanga: naye ndibaggyako eggye ery'obukiika bwa kkono ne nditwala wala, ne mbagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, abakulembeze be mu nnyaja ey'ebuvanjuba, n'abasembi be mu nnyanja ey'ebugwanjuba; n'ekivundu kye kiririnnya, n'okuwunya kwe kulirinnya, kubanga akoze bikulu. 29JOE002.021 Fear not, O land; be glad and rejoice: for the LORD will do great things. %%% Totya, ggwe ensi, sanyuka ojaguze; kubanga Mukama akoze ebikulu. 29JOE002.022 Be not afraid, ye beasts of the field: for the pastures of the wilderness do spring, for the tree beareth her fruit, the fig tree and the vine do yield their strength. %%% Temutya, mmwe ensolo ez'omu nsiko; kubanga amalundiro ag'omu ddungu galoka, kubanga omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gireeta amaanyi gaagyo. 29JOE002.023 Be glad then, ye children of Zion, and rejoice in the LORD your God: for he hath given you the former rain moderately, and he will cause to come down for you the rain, the former rain, and the latter rain in the first month. %%% Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukana Katonda wammwe: kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba, enkuba eya ttoggo n'enkuba eya ddumbi, mu mwezi ogw'olubeeberye. 29JOE002.024 And the floors shall be full of wheat, and the vats shall overflow with wine and oil. %%% N'amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galiyiika omwenge n'amafuta. 29JOE002.025 And I will restore to you the years that the locust hath eaten, the cankerworm, and the caterpiller, and the palmerworm, my great army which I sent among you. %%% Era ndibaddiza emyaka enzige gye yalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye lyange eringi lye nnagaba okubatabaala. 29JOE002.026 And ye shall eat in plenty, and be satisfied, and praise the name of the LORD your God, that hath dealt wondrously with you: and my people shall never be ashamed. %%% Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe eyabakola eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi ennaku zonna. 29JOE002.027 And ye shall know that I am in the midst of Israel, and that I am the LORD your God, and none else: and my people shall never be ashamed. %%% Era mulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi. 29JOE002.028 And it shall come to pass afterward, that I will pour out my spirit upon all flesh; and your sons and your daughters shall prophesy, your old men shall dream dreams, your young men shall see visions: %%% Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa: 29JOE002.029 And also upon the servants and upon the handmaids in those days will I pour out my spirit. %%% era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange. 29JOE002.030 And I will shew wonders in the heavens and in the earth, blood, and fire, and pillars of smoke. %%% Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka. 29JOE002.031 The sun shall be turned into darkness, and the moon into blood, before the great and the terrible day of the LORD come. %%% Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja. 29JOE002.032 And it shall come to pass, that whosoever shall call on the name of the LORD shall be delivered: for in mount Zion and in Jerusalem shall be deliverance, as the LORD hath said, and in the remnant whom the LORD shall call. %%% Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, ne mu kitundu ekirifikkawo mulibaamu abo Mukama b'aliyita. 29JOE003.001 For, behold, in those days, and in that time, when I shall bring again the captivity of Judah and Jerusalem, %%% Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndikomyawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi, 29JOE003.002 I will also gather all nations, and will bring them down into the valley of Jehoshaphat, and will plead with them there for my people and for my heritage Israel, whom they have scattered among the nations, and parted my land. %%% ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosaffaati; kale ndiyima eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyirizza mu mawanga ne bagabana ensi yange. 29JOE003.003 And they have cast lots for my people; and have given a boy for an harlot, and sold a girl for wine, that they might drink. %%% Era bakubidde abantu bange obululu: era bawaddeyo omulenzi olw'omukazi omwenzi, ne batunda omuwala olw'omwenge, balyoke banywe. 29JOE003.004 Yea, and what have ye to do with me, O Tyre, and Zidon, and all the coasts of Palestine? will ye render me a recompence? and if ye recompense me, swiftly and speedily will I return your recompence upon your own head; %%% Weewaawo, nammwe nfaayo ki eri mmwe, mmwe Ttuulo ne Sidoni n'enjuyi zonna ez'Obufirisuuti? Mulinsasula? n'okusasula bwe muliba nga munsasudde, ndyanguya mangu ndisambyako okuzza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe. 29JOE003.005 Because ye have taken my silver and my gold, and have carried into your temples my goodly pleasant things: %%% Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi ebisanyusa; 29JOE003.006 The children also of Judah and the children of Jerusalem have ye sold unto the Grecians, that ye might remove them far from their border. %%% era abaana ba Yuda n'abaana ba Yerusaalemi mwabaguza abaana b'Abayonaani, mubajjulule okubatwala ewala n'ensalo yaabwe: 29JOE003.007 Behold, I will raise them out of the place whither ye have sold them, and will return your recompence upon your own head: %%% laba, ndibagolokosa mu kifo gye mwabatunda, era ndizza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe: 29JOE003.008 And I will sell your sons and your daughters into the hand of the children of Judah, and they shall sell them to the Sabeans, to a people far off: for the LORD hath spoken it. %%% era nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe mu mukono gw'abaana ba Yuda, n'abo balibaguza abasajja b’e Seba, eggwanga eriri ewala: kubanga Mukama ye akyogedde. 29JOE003.009 Proclaim ye this among the Gentiles; Prepare war, wake up the mighty men, let all the men of war draw near; let them come up: %%% Mulangirire kino mu mawanga; mutegeke obulwa: mugolokose abasajja ab'amaanyi: abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke. 29JOE003.010 Beat your plowshares into swords, and your pruninghooks into spears: let the weak say, I am strong. %%% Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe okuba amafumu: omunafu ayogere nti Ndi wa maanyi. 29JOE003.011 Assemble yourselves, and come, all ye heathen, and gather yourselves together round about: thither cause thy mighty ones to come down, O LORD. %%% Mwanguwe mujje, mmwe mwenna amawanga ageetoolodde mukuŋŋaane: serengesa eyo ababo ab'amaanyi, ai Mukama: 29JOE003.012 Let the heathen be wakened, and come up to the valley of Jehoshaphat: for there will I sit to judge all the heathen round about. %%% Amawanga gayimuke gambuke mu kiwonvu kya Yekosaffaati: kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetoolodde. 29JOE003.013 Put ye in the sickle, for the harvest is ripe: come, get you down; for the press is full, the fats overflow; for their wickedness is great. %%% Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde: mujje musambe; kubanga essogolero lijjudde, amabanvu gayiika; kubanga obubi bwabwe bungi. 29JOE003.014 Multitudes, multitudes in the valley of decision: for the day of the LORD is near in the valley of decision. %%% Oluggube, oluggube, oluggube lw'abantu bali mu kiwonvu eky'okumaliririramu! kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu. 29JOE003.015 The sun and the moon shall be darkened, and the stars shall withdraw their shining. %%% Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo. 29JOE003.016 The LORD also shall roar out of Zion, and utter his voice from Jerusalem; and the heavens and the earth shall shake: but the LORD will be the hope of his people, and the strength of the children of Israel. %%% Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri. 29JOE003.017 So shall ye know that I am the LORD your God dwelling in Zion, my holy mountain: then shall Jerusalem be holy, and there shall no strangers pass through her any more. %%% Bwe mutyo mulimanya nga nze ndiMukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale Yerusaalemi kiriba kitukuvu so tewaliba bannaggwanga abalikiyitamu nate. 29JOE003.018 And it shall come to pass in that day, that the mountains shall drop down new wine, and the hills shall flow with milk, and all the rivers of Judah shall flow with waters, and a fountain shall come forth of the house of the LORD, and shall water the valley of Shittim. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, lulifukirira ekiwonvu Sittimu. 29JOE003.019 Egypt shall be a desolation, and Edom shall be a desolate wilderness, for the violence against the children of Judah, because they have shed innocent blood in their land. %%% Misiri eriba matongo, ne Edomu eriba ddungu eryalekebwawo, olw'ekyejo ekyagirirwa abaana ba Yuda, kubanga bayiye omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe. 29JOE003.020 But Judah shall dwell for ever, and Jerusalem from generation to generation. %%% Naye Yuda alibeerera ennaku zonna, ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna. 29JOE003.021 For I will cleanse their blood that I have not cleansed: for the LORD dwelleth in Zion. %%% Era ndirongoosa omusaayi gwabwe gwe ssaalongoosa: kubanga Mukama abeera ku Sayuuni. 30AMO001.001 The words of Amos, who was among the herdmen of Tekoa, which he saw concerning Israel in the days of Uzziah king of Judah, and in the days of Jeroboam the son of Joash king of Israel, two years before the earthquake. %%% Ebigambo byai eyali ow'oku basumba b’e Tekowa, bye yalaba ebya Isiraeri mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri ng'ekyasigaddeyo emyaka ebiri okutuuka ku kikankano ky'ensi. 30AMO001.002 And he said, The LORD will roar from Zion, and utter his voice from Jerusalem; and the habitations of the shepherds shall mourn, and the top of Carmel shall wither. %%% N'ayogera nti Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, era alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; kale amalundiro ag'abasumba galiwnubaala, n'entikko ya Kalumeeri eriwotoka. 30AMO001.003 Thus saith the LORD; For three transgressions of Damascus, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because they have threshed Gilead with threshing instruments of iron: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bisatu ebya Ddamasiko, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bawudde Gireyaadi n'ebintu ebiwuula eby'ebyuma: 30AMO001.004 But I will send a fire into the house of Hazael, which shall devour the palaces of Benhadad. %%% naye ndiweereza omuliro mu nnyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi. 30AMO001.005 I will break also the bar of Damascus, and cut off the inhabitant from the plain of Aven, and him that holdeth the sceptre from the house of Eden: and the people of Syria shall go into captivity unto Kir, saith the LORD. %%% Era ndimenya ekisiba kya Ddamasiko, ne mmalawo oyo abeera mu kiwonvu kya Aveni, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku nnyumba ya Adeni: n'abantu ab'e Busuuli baligenda mu busibe e Kiri, bw'ayogera Mukama. 30AMO001.006 Thus saith the LORD; For three transgressions of Gaza, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because they carried away captive the whole captivity, to deliver them up to Edom: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Gaza bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga batwala nga basibe eggwanga lyonna okubawaayo eri Edomu: 30AMO001.007 But I will send a fire on the wall of Gaza, which shall devour the palaces thereof: %%% naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Gaza, era gulyokya amayumba gaakyo: 30AMO001.008 And I will cut off the inhabitant from Ashdod, and him that holdeth the sceptre from Ashkelon, and I will turn mine hand against Ekron: and the remnant of the Philistines shall perish, saith the Lord GOD. %%% era ndimalawo abali mu Asudodi, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bw'a yogera Mukama Katonda. 30AMO001.009 Thus saith the LORD; For three transgressions of Tyrus, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because they delivered up the whole captivity to Edom, and remembered not the brotherly covenant: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Ttuulo bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bagabula eggwanga lyonna eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'oluganda: 30AMO001.010 But I will send a fire on the wall of Tyrus, which shall devour the palaces thereof. %%% naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Ttuulo, era gulyokya amayumba gaakyo. 30AMO001.011 Thus saith the LORD; For three transgressions of Edom, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because he did pursue his brother with the sword, and did cast off all pity, and his anger did tear perpetually, and he kept his wrath for ever: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Edomu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga yayigganyanga muganda we n'ekitala, n'asuula okusaasira kwonna, obusungu bwe ne butaagulataagula ennaku zonna n'aguguba n'ekiruyi kye emirembe gyonna: 30AMO001.012 But I will send a fire upon Teman, which shall devour the palaces of Bozrah. %%% naye ndiweereza omuliro ku Temani, era gulyokya amayumba ag'e Bozula. 30AMO001.013 Thus saith the LORD; For three transgressions of the children of Ammon, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because they have ripped up the women with child of Gilead, that they might enlarge their border: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono eby'abaana ba Amoni bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaako; kubanga babaaze abakazi abali embuuto ab'e Giriyaadi, balyoke bagaziye ensalo yaabwe: 30AMO001.014 But I will kindle a fire in the wall of Rabbah, and it shall devour the palaces thereof, with shouting in the day of battle, with a tempest in the day of the whirlwind: %%% naye ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Labba, era gulyokya amayumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw'olutalo, kibuyaga ng'akunta ku lunaku olw'embuyaga ez'akazimu: 30AMO001.015 And their king shall go into captivity, he and his princes together, saith the LORD. %%% era kabaka waabwe aligenda mu busibe, ye n'abakungu be wamu, nw'ayogera Mukama. 30AMO002.001 Thus saith the LORD; For three transgressions of Moab, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because he burned the bones of the king of Edom into lime: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Mowaabu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo; kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'agafuula evvu: 30AMO002.002 But I will send a fire upon Moab, and it shall devour the palaces of Kirioth: and Moab shall die with tumult, with shouting, and with the sound of the trumpet: %%% naye ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ag'e Keriyoosi; era Mowaabu alifa, nga basasamala nga baleekaana nga bafuuwa ekkondeere: 30AMO002.003 And I will cut off the judge from the midst thereof, and will slay all the princes thereof with him, saith the LORD. %%% era ndimalawo omulamuzi okuva wakati mu kyo, era ndittira abakungu baamu bonna wamu naye, bw'ayogera Mukama. 30AMO002.004 Thus saith the LORD; For three transgressions of Judah, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because they have despised the law of the LORD, and have not kept his commandments, and their lies caused them to err, after the which their fathers have walked: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Yuda bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, so tebakutte biragiro bye, n'eby'obulimba byabwe bibawabizza, bajjajjaabwe bye baagobereranga mu kutambuia kwabwe: 30AMO002.005 But I will send a fire upon Judah, and it shall devour the palaces of Jerusalem. %%% naye ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi. 30AMO002.006 Thus saith the LORD; For three transgressions of Israel, and for four, I will not turn away the punishment thereof; because they sold the righteous for silver, and the poor for a pair of shoes; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Isiraeri bisatu, weewaawo, olw'ebina, siiikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga batunze omutuukirivu olw'effeeza n'eyeetaaga olw'omugogo gw'engatto: 30AMO002.007 That pant after the dust of the earth on the head of the poor, and turn aside the way of the meek: and a man and his father will go in unto the same maid, to profane my holy name: %%% abawankirawankira enfuufu ey'oku nsi ey'oku mutwe gw'abaavu, ne bakyamya olugendo olw'abawombeefu: n'omusajja ne kitaawe baliyingira eri omuwala omu, okwonoona erinnya lyange ettukuvu: 30AMO002.008 And they lay themselves down upon clothes laid to pledge by every altar, and they drink the wine of the condemned in the house of their god. %%% era bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze basingirwa, ne mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanze. 30AMO002.009 Yet destroyed I the Amorite before them, whose height was like the height of the cedars, and he was strong as the oaks; yet I destroyed his fruit from above, and his roots from beneath. %%% Era naye nazikiriza Omwamoli mu mberi yaabwe, obuwanvu bwe bwali ng'obuwanvu obw'emivule, era yali wa maanyi ng'emyera; era naye nazikiriza ebibala bye engulu n'emmizi gye wansi. 30AMO002.010 Also I brought you up from the land of Egypt, and led you forty years through the wilderness, to possess the land of the Amorite. %%% Era nabalinnyisa nga mbaggya mu nsi y'e Misiri ne mbaluŋŋamiza emyaka amakumi ana mu ddungu, okulya ensi ey'Omwamoli. 30AMO002.011 And I raised up of your sons for prophets, and of your young men for Nazarites. Is it not even thus, O ye children of Israel? saith the LORD. %%% Ne ngolokosa ku batabani bammwe okuba bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, ai mmwe abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. 30AMO002.012 But ye gave the Nazarites wine to drink; and commanded the prophets, saying, Prophesy not. %%% Naye ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira bannabbi nga mwogera nti Temulagula. 30AMO002.013 Behold, I am pressed under you, as a cart is pressed that is full of sheaves. %%% Laba, ndibanyigiriza mu kifo kyammwe, ng'eggaali erijjudde ebinywa bwe linyigiriza. 30AMO002.014 Therefore the flight shall perish from the swift, and the strong shall not strengthen his force, neither shall the mighty deliver himself: %%% Awo okudduka kulibula ow'embiro, so n'ow'amaanyi talyongera maanyi ge, so n'omuzira talyewonya: 30AMO002.015 Neither shall he stand that handleth the bow; and he that is swift of foot shall not deliver himself: neither shall he that rideth the horse deliver himself. %%% so n'oyo akwata omutego taliyimirira; era n'omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talyewonya: 30AMO002.016 And he that is courageous among the mighty shall flee away naked in that day, saith the LORD. %%% n'oyo alina obugumu mu b'amaanyi alidduka ng'ali bwereere ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama. 30AMO003.001 Hear this word that the LORD hath spoken against you, O children of Israel, against the whole family which I brought up from the land of Egypt, saying, %%% Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, ku kika kyonna kye nnalinnyisa nga nkiggya mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti 30AMO003.002 You only have I known of all the families of the earth: therefore I will punish you for all your iniquities. %%% Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi zonna: kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna. 30AMO003.003 Can two walk together, except they be agreed? %%% Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye? 30AMO003.004 Will a lion roar in the forest, when he hath no prey? will a young lion cry out of his den, if he have taken nothing? %%% Empologoma ewulugumira mu kibira nga terina muyiggo? empologoma ento eyima mu mpuku yaayo okulira nga teriiko ky'ekutte? 30AMO003.005 Can a bird fall in a snare upon the earth, where no gin is for him? shall one take up a snare from the earth, and have taken nothing at all? %%% Ennyonyi eyinza okugwa mu mutego ku nsi nga tebagiteze kakunizo? omutego gumasuka okuva wansi nga teguliiko kye gukwasizza? 30AMO003.006 Shall a trumpet be blown in the city, and the people not be afraid? shall there be evil in a city, and the LORD hath not done it? %%% Bafuuyira ekkondeere mu kibuga, abantu ne batatya? obubi bugwa ku kibuga, Mukama nga tabuleese? 30AMO003.007 Surely the Lord GOD will do nothing, but he revealeth his secret unto his servants the prophets. %%% Mazima Mukama Katonda taliiko ky'alikola wabula ng'abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye. 30AMO003.008 The lion hath roared, who will not fear? the Lord GOD hath spoken, who can but prophesy? %%% Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde, ani ayinza obutalagula? 30AMO003.009 Publish in the palaces at Ashdod, and in the palaces in the land of Egypt, and say, Assemble yourselves upon the mountains of Samaria, and behold the great tumults in the midst thereof, and the oppressed in the midst thereof. %%% Mulangirire mu mayumba mu Asudodi ne mu mayumba mu nsi y'e Misiri, mwogere nti Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe enjoogaano eziri omwo bwe zenkana obungi, n'okujooga bwe kuli okuli omwo wakati. 30AMO003.010 For they know not to do right, saith the LORD, who store up violence and robbery in their palaces. %%% Kubanga tebamanyi kukola bya nsonga, bw'ayogera Mukama, abo abatereka ekyejo n'obunyazi mu mayumba gaabwe. 30AMO003.011 Therefore thus saith the Lord GOD; An adversary there shall be even round about the land; and he shall bring down thy strength from thee, and thy palaces shall be spoiled. %%% Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Walibaawo omulabe, okwetooloola ensi enjuyi zonna: naye alikkakkanya amaanyi go okukuvaako, n'amayumba go galinyagibwa. 30AMO003.012 Thus saith the LORD; As the shepherd taketh out of the mouth of the lion two legs, or a piece of an ear; so shall the children of Israel be taken out that dwell in Samaria in the corner of a bed, and in Damascus in a couch. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omusumba bw'awonyaako mu kamwa k'empologoma amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu; bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baliwonyezebwa, abatuula mu Samaliya mu nsonda y'ekiriri ne ku bigugu ebya aliiri eby'oku kitanda: 30AMO003.013 Hear ye, and testify in the house of Jacob, saith the Lord GOD, the God of hosts, %%% Muwulire mube abajulirwa eri ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye. 30AMO003.014 That in the day that I shall visit the transgressions of Israel upon him I will also visit the altars of Bethel: and the horns of the altar shall be cut off, and fall to the ground. %%% Kubanga ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndibonereza n'ebyoto bya Beseri, n'amayembe g'ekyoto galisalihwako ne gagwa wansi. 30AMO003.015 And I will smite the winter house with the summer house; and the houses of ivory shall perish, and the great houses shall have an end, saith the LORD. %%% Era ndikuba ennyumba eya ttoggo wamu n'ennyumba ey'ekyeya; n'ennyumba ez'amasanga ziribula, n'amayumba amanene galikoma, bw'ayogera Mukama. 30AMO004.001 Hear this word, ye kine of Bashan, that are in the mountain of Samaria, which oppress the poor, which crush the needy, which say to their masters, Bring, and let us drink. %%% Muwulire ekigambo kino, mmwe ente ez'e Basani, abali ku lusozi lwa Samaliya, abajooga abaavu, abakamula abeetaaga, abagamba bakama baabwe nti Muleete tunywe. 30AMO004.002 The Lord GOD hath sworn by his holiness, that, lo, the days shall come upon you, that he will take you away with hooks, and your posterity with fishhooks. %%% Mukama Katonda alayidde obutukuvu bwe nga, laba, ennaku ziribatuukako lwe balibaggyawo n'amalobo, n'ekitundu kyammwe ekirifikkawo balibaggyawo n'amalobo agavuba. 30AMO004.003 And ye shall go out at the breaches, every cow at that which is before her; and ye shall cast them into the palace, saith the LORD. %%% Era mulivaamu nga muyita mu bituli ebiwaguddwa, buli nte ng'esimbira ddala mu maaso gaayo; ne mwesuula mu Kalumooni, bw'ayogera Mukama. 30AMO004.004 Come to Bethel, and transgress; at Gilgal multiply transgression; and bring your sacrifices every morning, and your tithes after three years: %%% Mujje e Beseri mwonoone; mujje e Girugaali mwongere okwonoona kwammwe; era muleetenga ssaddaaka zammwe buli nkya n'ebitundu byammwe eby'ekkumi buli nnaku essatu; 30AMO004.005 And offer a sacrifice of thanksgiving with leaven, and proclaim and publish the free offerings: for this liketh you, O ye children of Israel, saith the Lord GOD. %%% muweeyo ssaddaaka ey'okwebaza ku ebyo ebizimbulukuswa, mulangirire ebiweebwayo ku bwammwe mubiraalike: kubanga ekyo kye musiima, ai mmwe abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda. 30AMO004.006 And I also have given you cleanness of teeth in all your cities, and want of bread in all your places: yet have ye not returned unto me, saith the LORD. %%% Era nange mbawadde obulongoofu bw'amannyo mu bibuga byammwe n'okubulwa emmere mu mayumba gammwe gonna: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama. 30AMO004.007 And also I have withholden the rain from you, when there were yet three months to the harvest: and I caused it to rain upon one city, and caused it not to rain upon another city: one piece was rained upon, and the piece whereupon it rained not withered. %%% Era nange mbaziyirizza enkuba, ng'ekyasigaddeyo emyezi esatu okutuusa amakungula: ne ntonnyesa enkuba ku kibuga ekimu, ne nziyiza enkuba okutonnya ku kibuga ekirala: ekitundu kimu kyatonnyebwako, n'ekitundu ky'etaatonnyako ne kiwotoka. 30AMO004.008 So two or three cities wandered unto one city, to drink water; but they were not satisfied: yet have ye not returned unto me, saith the LORD. %%% Awo ab'omu bibuga ebibiri oba bisatu ne batambulatambula ne batuuka mu kibuga ekimu okunywa amazzi, so tebakkutanga: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama. 30AMO004.009 I have smitten you with blasting and mildew: when your gardens and your vineyards and your fig trees and your olive trees increased, the palmerworm devoured them: yet have ye not returned unto me, saith the LORD. %%% Mbakubye n'okugengewala n'obukuku: akawuka kalidde olufulube lw'ensuku zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabbibu n'emitiini gyammwe n'emizeyituuni gyammwe: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama. 30AMO004.010 I have sent among you the pestilence after the manner of Egypt: your young men have I slain with the sword, and have taken away your horses; and I have made the stink of your camps to come up unto your nostrils: yet have ye not returned unto me, saith the LORD. %%% Mpeerezza mu mmwe kawumpuli ng'engeri ey'e Misiri bwe yali: abalenzi bammwe mbasse n'ekitala, ne nziyawo embalaasi zammwe; ne nninnyisiza ne mu nnyindo zammwe okuwunya kw'olusiisira lwammwe: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama. 30AMO004.011 I have overthrown some of you, as God overthrew Sodom and Gomorrah, and ye were as a firebrand plucked out of the burning: yet have ye not returned unto me, saith the LORD. %%% Nsudde abamu ku mmwe nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola, nammwe ne muba ng'omumuli ogusiikibwa mu muliro: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama. 30AMO004.012 Therefore thus will I do unto thee, O Israel: and because I will do this unto thee, prepare to meet thy God, O Israel. %%% Kyendiva nkukola bwe nti, ai Isiraeri: era kubanga ndikukola kino, weeteeketeeke okusisinkana ne Katonda wo, ai Isiraeri. 30AMO004.013 For, lo, he that formeth the mountains, and createth the wind, and declareth unto man what is his thought, that maketh the morning darkness, and treadeth upon the high places of the earth, The LORD, The God of hosts, is his name. %%% Kubanga, laba, oyo abumba ensozi, era atonda embuyaga, era abuulira omuntu by'alowooza, afuula enkya okuba ekizikiza, era alinnya ku bifo ebigulumivu eby'ensi; Mukama Katonda ow'eggye lye linnya lye. 30AMO005.001 Hear ye this word which I take up against you, even a lamentation, O house of Israel. %%% Muwulire ekigambo kino kye nkwata okubakungubagira, ai ennyumba ya Isiraeri. 30AMO005.002 The virgin of Israel is fallen; she shall no more rise: she is forsaken upon her land; there is none to raise her up. %%% Omuwala wa Isiraeri agudde; takyayimuka nate: asuuliddwa wansi ku nsi ye tewali wa kumuyimusa. 30AMO005.003 For thus saith the Lord GOD; The city that went out by a thousand shall leave an hundred, and that which went forth by an hundred shall leave ten, to the house of Israel. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekyavangamu olukumi kirisigazaawo kikumi, n'ekyo ekyavangamu ekikumi kirisigazaawo kkumi, eri ennyumba ya Isiraeri. 30AMO005.004 For thus saith the LORD unto the house of Israel, Seek ye me, and ye shall live: %%% Kubanga bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti Munnoonye, kale munaabanga balamu: 30AMO005.005 But seek not Bethel, nor enter into Gilgal, and pass not to Beersheba: for Gilgal shall surely go into captivity, and Bethel shall come to nought. %%% naye temunoonyanga Beseri, so temuyingiranga mu Girugaali, so temuyitanga okugenda e Beeruseba: kubanga Girugaali tekirirema kugenda mu busibe, ne Beseri kiriggwaawo. 30AMO005.006 Seek the LORD, and ye shall live; lest he break out like fire in the house of Joseph, and devour it, and there be none to quench it in Bethel. %%% Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu; aleme okubuubuuka ng'omuliro mu nnyumba ya Yusufu, ne gwokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri: 30AMO005.007 Ye who turn judgment to wormwood, and leave off righteousness in the earth, %%% mmwe abafuula omusango okuba obusinso, ne musuula wansi obutuukirivu; 30AMO005.008 Seek him that maketh the seven stars and Orion, and turneth the shadow of death into the morning, and maketh the day dark with night: that calleth for the waters of the sea, and poureth them out upon the face of the earth: The LORD is his name: %%% munoonye oyo akola kakaaga n'entungalugoye, era afuula ekisiikirize eky'okufa okuba enkya, era asiikiriza omusana n'ekiro; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olukalu; Mukama lye linnya lye; 30AMO005.009 That strengtheneth the spoiled against the strong, so that the spoiled shall come against the fortress. %%% aleeta okuzikirira ku w'amaanyi nga tamanyiridde, okuzikirira ne kutuuka ku kigo. 30AMO005.010 They hate him that rebuketh in the gate, and they abhor him that speaketh uprightly. %%% Bakyawa oyo anenya mu mulyango, era batamwa oyo ayogera ebigolokofu. 30AMO005.011 Forasmuch therefore as your treading is upon the poor, and ye take from him burdens of wheat: ye have built houses of hewn stone, but ye shall not dwell in them; ye have planted pleasant vineyards, but ye shall not drink wine of them. %%% Kale kubanga mulinnyirira omwavu, ne mumukamula eŋŋaano: mwazimba ennyumba ez'amayinja amateme, naye temulizituulamu; mwasimba ensuku z'emizabbibu ezisanyusa, naye temulinywa mwenge gwamu. 30AMO005.012 For I know your manifold transgressions and your mighty sins: they afflict the just, they take a bribe, and they turn aside the poor in the gate from their right. %%% Kubanga mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'ebibi byammwe bwe byenkana amaanyi mmwe ababonyaabonya omutuukirivu, abalya enguzi, era abagobera abo abeetaaga mu mulyango. 30AMO005.013 Therefore the prudent shall keep silence in that time; for it is an evil time. %%% Omukabakaba kyaliva asirika mu biro ebifaanana bwe bityo; kubanga bye biro ebibi. 30AMO005.014 Seek good, and not evil, that ye may live: and so the LORD, the God of hosts, shall be with you, as ye have spoken. %%% Munoonye obulungi so si bubi, mulyoke mubeerenga abalamu: kale Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe nga bwe mwogera. 30AMO005.015 Hate the evil, and love the good, and establish judgment in the gate: it may be that the LORD God of hosts will be gracious unto the remnant of Joseph. %%% Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, munywezenga eby'ensonga mu mulyango: mpozzi Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo. 30AMO005.016 Therefore the LORD, the God of hosts, the LORD, saith thus; Wailing shall be in all streets; and they shall say in all the highways, Alas! alas! and they shall call the husbandman to mourning, and such as are skilful of lamentation to wailing. %%% Mukama Katonda ow'eggye, Mukama kyava ayogera bw'ati nti Ebiwoobe biriba mu nguudo zonna engazi era balyogerera mu makubo gonna nti Woowe, woowe! kale baliyita omulimi okukuba ebiwoobe, n'abo abalina amagezi okukungubaga okukuba ebiwoobe. 30AMO005.017 And in all vineyards shall be wailing: for I will pass through thee, saith the LORD. %%% Awo mu nsuku zonna ez'emizabbibu mulibaamu ebiwoobe: kubanga ndiyita mu ggwe wakati, bw'ayogera Mukama. 30AMO005.018 Woe unto you that desire the day of the LORD! to what end is it for you? the day of the LORD is darkness, and not light. %%% Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? kizikiza so si musana. 30AMO005.019 As if a man did flee from a lion, and a bear met him; or went into the house, and leaned his hand on the wall, and a serpent bit him. %%% Kwenkana omusajja ng'adduka empologoma, n'asisinkana eddubu n'esisinkana naye: oba ng'ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge omukono gwe omusota ne gumuluma. 30AMO005.020 Shall not the day of the LORD be darkness, and not light? even very dark, and no brightness in it? %%% Olunaku lwa Mukama teruliba kizikiza so si musana? ekizikiza zigizigi so nga temuli katangaala? 30AMO005.021 I hate, I despise your feast days, and I will not smell in your solemn assemblies. %%% Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu. 30AMO005.022 Though ye offer me burnt offerings and your meat offerings, I will not accept them: neither will I regard the peace offerings of your fat beasts. %%% Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, siribikkiriza: so sirissaayo mwoyo eri ebiweebwayo olw'emirembe eby'ensolo zammwe eza ssava. 30AMO005.023 Take thou away from me the noise of thy songs; for I will not hear the melody of thy viols. %%% Nziyaako oluyoogaano olw'ennyimba zo; kubanga siiwulire nnanga zo bwe zikubibwa obulungi. 30AMO005.024 But let judgment run down as waters, and righteousness as a mighty stream. %%% Naye omusango gukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogw'amaanyi. 30AMO005.025 Have ye offered unto me sacrifices and offerings in the wilderness forty years, O house of Israel? %%% Mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ddungu emyaka amakumi ana, ai ennyumba ya Isiraeri? 30AMO005.026 But ye have borne the tabernacle of your Moloch and Chiun your images, the star of your god, which ye made to yourselves. %%% Weewaawo, mwasitulanga Sikusi kabaka wammwe ne Kiyuni, ebifaananyi byammwe, emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera. 30AMO005.027 Therefore will I cause you to go into captivity beyond Damascus, saith the LORD, whose name is The God of hosts. %%% Kyendiva mbatwaza mu busibe okuyita e Ddamasiko, bw'ayogera Mukama, erinnya lye Katonda ow'eggye. 30AMO006.001 Woe to them that are at ease in Zion, and trust in the mountain of Samaria, which are named chief of the nations, to whom the house of Israel came! %%% Zibasanze abo abeegolodde mu Sayuuni n'abo abataliiko kye batya ku lusozi lw’e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga obukulu, abajjirwa ennyumba ya Isiraeri! 30AMO006.002 Pass ye unto Calneh, and see; and from thence go ye to Hamath the great: then go down to Gath of the Philistines: be they better than these kingdoms? or their border greater than your border? %%% Muyite mugende e Kalune mulabe; muveeyo mugende e Kamasi ekikulu: mulyoke muserengete e Gaasi eky'Abafirisuuti: bisinga obwakabaka buno bwombi obulungi? oba ensalo yaabwe ekira ensalo yammwe obugazi? 30AMO006.003 Ye that put far away the evil day, and cause the seat of violence to come near; %%% Mmwe abateeka ewala olunaku olubi ne musembeza kumpi entebe ey'ekyejo; 30AMO006.004 That lie upon beds of ivory, and stretch themselves upon their couches, and eat the lambs out of the flock, and the calves out of the midst of the stall; %%% abagalamira ku bitanda eby'amasanga ne beegolorera ku biriri byabwe, ne balya abaana b'endiga ab'omu kisibo, n'ennyana nga baziggya mu kisibo; 30AMO006.005 That chant to the sound of the viol, and invent to themselves instruments of musick, like David; %%% abayimbira ennyimba ezitaliimu ku ddoboozi ery'ennanga; abeegunjira ebintu ebivuga nga Dawudi; 30AMO006.006 That drink wine in bowls, and anoint themselves with the chief ointments: but they are not grieved for the affliction of Joseph. %%% abanywera omwenge mu bibya, ne basaaba amafuta agasinga obulungi; naye tebanakuwalidde kubonyaabonyezebwa kwa Yusufu. 30AMO006.007 Therefore now shall they go captive with the first that go captive, and the banquet of them that stretched themselves shall be removed. %%% Kale kyebaliva bagenda mu busibe wamu n'abo abaasooka okugenda mu busibe, n'ebinyumu by'abo abeegolola birivaawo. 30AMO006.008 The Lord GOD hath sworn by himself, saith the LORD the God of hosts, I abhor the excellency of Jacob, and hate his palaces: therefore will I deliver up the city with all that is therein. %%% Mukama Katonda yeerayidde yekka, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye, nti Nkyawa obulungi bwa Yakobo, ne ntamwa amayumba ge: kyendiva mpaayo ekibuga ne byonna ebikirimu. 30AMO006.009 And it shall come to pass, if there remain ten men in one house, that they shall die. %%% Awo olulituuka abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu balifa. 30AMO006.010 And a man's uncle shall take him up, and he that burneth him, to bring out the bones out of the house, and shall say unto him that is by the sides of the house, Is there yet any with thee? and he shall say, No. Then shall he say, Hold thy tongue: for we may not make mention of the name of the LORD. %%% Era omuntu bw'anaasitulibwa kojjaawe, oyo amwokya, okuggya amagumba mu nnyumba, n'agamba oyo ali mu njuyi ez'ennyumba ez'omunda nti Wakyaliwo ali naawe? naye n'addamu nti Nedda; kale n'alyoka ayogera nti Sirika; kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama. 30AMO006.011 For, behold, the LORD commandeth, and he will smite the great house with breaches, and the little house with clefts. %%% Kubanga, laba, Mukama alagidde, n'ennyumba ennene eriwagulwamu ebituli n'ennyumba entono eribaamu enjatika. 30AMO006.012 Shall horses run upon the rock? will one plow there with oxen? for ye have turned judgment into gall, and the fruit of righteousness into hemlock: %%% Embalaasi ziriddukira mbiro ku lwazi? omuntu alirimira okwo n'ente? mmwe okufuula ne mufuula omusango okuba omususa n'ebibala eby'obutuukirivu okuba abusinso: 30AMO006.013 Ye which rejoice in a thing of nought, which say, Have we not taken to us horns by our own strength? %%% mmwe abasanyukira ekintu ekitaliiko kye kigasa, aboogera nti Tetwefunidde mayembe olw'amaanyi gaffe ffe? 30AMO006.014 But, behold, I will raise up against you a nation, O house of Israel, saith the LORD the God of hosts; and they shall afflict you from the entering in of Hemath unto the river of the wilderness. %%% Kubanga, laba, ndibayimusizaako eggwanga, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye; era balibabonyaabonya okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba. 30AMO007.001 Thus hath the Lord GOD shewed unto me; and, behold, he formed grasshoppers in the beginning of the shooting up of the latter growth; and, lo, it was the latter growth after the king's mowings. %%% Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, yabumba enzige ebimererezi nga bitanudde okumera; era, laba, byali bimererezi okukungula kwa kabaka nga kuwedde. 30AMO007.002 And it came to pass, that when they had made an end of eating the grass of the land, then I said, O Lord GOD, forgive, I beseech thee: by whom shall Jacob arise? for he is small. %%% Awo olwatuuka bwe zaamala okulya omuddo ogw'omu nsi ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? kubanga mutono. 30AMO007.003 The LORD repented for this: It shall not be, saith the LORD. %%% Mukama ne yejjusa olw'ekyo: Tekiribaawo, bw'ayogera Mukama. 30AMO007.004 Thus hath the Lord GOD shewed unto me: and, behold, the Lord GOD called to contend by fire, and it devoured the great deep, and did eat up a part. %%% Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: kale, laba, Mukama Katonda n'ayita abantu okuwakana n'omuliro; ne gwokya obuziba obunene, era gwandimazeewo n'olukalu. 30AMO007.005 Then said I, O Lord GOD, cease, I beseech thee: by whom shall Jacob arise? for he is small. %%% Awo ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? kubanga mutono. 30AMO007.006 The LORD repented for this: This also shall not be, saith the Lord GOD. %%% Awo Mukama ne yejjusa ekyo: Era n'ekyo tekiribaawo, bw'ayogera Mukama Katonda. 30AMO007.007 Thus he shewed me: and, behold, the LORD stood upon a wall made by a plumbline, with a plumbline in his hand. %%% Bw'atyo bwe yandaga: kale, laba, Mukama n'ayimirira ku mabbali g'ekisenge ekyazimbibwa n'omugwa ogugera, era ng'akutte omugwa ogugera mu mukono gwe. 30AMO007.008 And the LORD said unto me, Amos, what seest thou? And I said, A plumbline. Then said the LORD, Behold, I will set a plumbline in the midst of my people Israel: I will not again pass by them any more: %%% Awo Mukama n'aŋŋamba ntii, olaba ki? Ne ŋŋamba nti Omugwa ogugera. Awo Mukama n'ayogera nti Laba, nditeeka omugwa ogugera wakati w'abantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri: 30AMO007.009 And the high places of Isaac shall be desolate, and the sanctuaries of Israel shall be laid waste; and I will rise against the house of Jeroboam with the sword. %%% n'ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birirekebwawo, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri birizisibwa; era ndigolokokera ku nnyumba ya Yerobowaamu n'ekitala. 30AMO007.010 Then Amaziah the priest of Bethel sent to Jeroboam king of Israel, saying, Amos hath conspired against thee in the midst of the house of Israel: the land is not able to bear all his words. %%% Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'ayogera ntii akwekobedde wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna. 30AMO007.011 For thus Amos saith, Jeroboam shall die by the sword, and Israel shall surely be led away captive out of their own land. %%% Kubangai bw'ayogera bw'ati nti Yerobowaamu alifa n'ekitala, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye. 30AMO007.012 Also Amaziah said unto Amos, O thou seer, go, flee thee away into the land of Judah, and there eat bread, and prophesy there: %%% Era Amaziya n'agambai nti Ggwe omulabi, genda weddukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emmere, olagulire eyo: 30AMO007.013 But prophesy not again any more at Bethel: for it is the king's chapel, and it is the king's court. %%% naye tolagulanga nate lwa kubiri e Beseri: kubanga kye kifo ekitukuvu ekya kabaka, era ye nnyumba ya kabaka. 30AMO007.014 Then answered Amos, and said to Amaziah, I was no prophet, neither was I a prophet's son; but I was an herdman, and a gatherer of sycomore fruit: %%% Awoi n'alyoka addamu n'agamba Amaziya nti Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi; naye nnali musumba era musalizi w'emisukomooli: 30AMO007.015 And the LORD took me as I followed the flock, and the LORD said unto me, Go, prophesy unto my people Israel. %%% Mukama n'anziya ku mulimu ogw'okugoberera ekisibo, Mukama n'aŋŋamba nti Genda olagule abantu bange Isiraeri. 30AMO007.016 Now therefore hear thou the word of the LORD: Thou sayest, Prophesy not against Israel, and drop not thy word against the house of Isaac. %%% Kale nno wulira ekigambo kya Mukama: Oyogera nti Tolagulanga ku Isiraeri, so totonnyesanga ku nnyumba ya Isaaka; 30AMO007.017 Therefore thus saith the LORD; Thy wife shall be an harlot in the city, and thy sons and thy daughters shall fall by the sword, and thy land shall be divided by line; and thou shalt die in a polluted land: and Israel shall surely go into captivity forth of his land. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo baligwa n'ekitala, n'ensi yo erigabibwa n'omugwa; naawe kennyini olifiira mu nsi eteri nnongoofu, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye. 30AMO008.001 Thus hath the Lord GOD shewed unto me: and behold a basket of summer fruit. %%% Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. 30AMO008.002 And he said, Amos, what seest thou? And I said, A basket of summer fruit. Then said the LORD unto me, The end is come upon my people of Israel; I will not again pass by them any more. %%% N'ayogera ntii, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri. 30AMO008.003 And the songs of the temple shall be howlings in that day, saith the Lord GOD: there shall be many dead bodies in every place; they shall cast them forth with silence. %%% Awo ennyimba ez'omu yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise. 30AMO008.004 Hear this, O ye that swallow up the needy, even to make the poor of the land to fail, %%% Muwulire kino, ai mmwe abaagala okuliira ddala eyeetaaga n'okumalawo abaavu ab'omu nsi, nga mwogera nti 30AMO008.005 Saying, When will the new moon be gone, that we may sell corn? and the sabbath, that we may set forth wheat, making the ephah small, and the shekel great, and falsifying the balances by deceit? %%% Omwezi ogwakaboneka guliggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? ne ssabbiiti, tusumulule eŋŋaano? nga mutoniwaza efa, era nga munenewaza sekeri, era nga mulyazaamaanya ne minzaani ez'obulimba; 30AMO008.006 That we may buy the poor for silver, and the needy for a pair of shoes; yea, and sell the refuse of the wheat? %%% tugule abaavu n’effeeza, n'abeetaaga n'omugogo gw'engatto, era tutunde ebisasiro by'eŋŋaano. 30AMO008.007 The LORD hath sworn by the excellency of Jacob, Surely I will never forget any of their works. %%% Mukama alayidde obulungi bwa Yakobo nti Mazima seerabirenga bikolwa byabwe na kimu ennaku zonna. 30AMO008.008 Shall not the land tremble for this, and every one mourn that dwelleth therein? and it shall rise up wholly as a flood; and it shall be cast out and drowned, as by the flood of Egypt. %%% Ensi terikankanira ekyo, buli muntu n'awuubaala abeera omwo? weewaawo, eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era eritabanguka n'ekka nate nga Omugga ogw'e Misiri. 30AMO008.009 And it shall come to pass in that day, saith the Lord GOD, that I will cause the sun to go down at noon, and I will darken the earth in the clear day: %%% Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda, ndigwisa enjuba mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi obudde nga butangaala. 30AMO008.010 And I will turn your feasts into mourning, and all your songs into lamentation; and I will bring up sackcloth upon all loins, and baldness upon every head; and I will make it as the mourning of an only son, and the end thereof as a bitter day. %%% Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga; era ndireeta ebibukutu ku biwato byonna, n'ebiwalaata ku buli mutwe; era ndirufuula ng'okukungubagira omwana eyazaalibwa omu, n'enkomerero yaalwo ng'olunaku olubalagala. 30AMO008.011 Behold, the days come, saith the Lord GOD, that I will send a famine in the land, not a famine of bread, nor a thirst for water, but of hearing the words of the LORD: %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama. 30AMO008.012 And they shall wander from sea to sea, and from the north even to the east, they shall run to and fro to seek the word of the LORD, and shall not find it. %%% Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja endala, n'okuva obukiika obwa kkono okutuuka ebuvanjuba; baliddukana mbiro eruuyi n'eruuyi okunoonya ekigambo kya Mukama, so tebalikiraba. 30AMO008.013 In that day shall the fair virgins and young men faint for thirst. %%% Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta. 30AMO008.014 They that swear by the sin of Samaria, and say, Thy god, O Dan, liveth; and, The manner of Beersheba liveth; even they shall fall, and never rise up again. %%% Abalayira ekibi kya Samaliya ne boogera nti Nga Katonda wo, ai Ddaani, bw'ali omulamu; era nti Ng'ekkubo lya Beeruseba bwe liri eddamu; abo baligwa so tebaliyimuka nate. 30AMO009.001 I saw the LORD standing upon the altar: and he said, Smite the lintel of the door, that the posts may shake: and cut them in the head, all of them; and I will slay the last of them with the sword: he that fleeth of them shall not flee away, and he that escapeth of them shall not be delivered. %%% Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto: n'ayogera nti Kuba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy'abo bonna; era nditta n'ekitala ow'enkomerero ku bo: tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n'omu. 30AMO009.002 Though they dig into hell, thence shall mine hand take them; though they climb up to heaven, thence will I bring them down: %%% Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo. 30AMO009.003 And though they hide themselves in the top of Carmel, I will search and take them out thence; and though they be hid from my sight in the bottom of the sea, thence will I command the serpent, and he shall bite them: %%% Era newakubadde nga beekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw'ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma. 30AMO009.004 And though they go into captivity before their enemies, thence will I command the sword, and it shall slay them: and I will set mine eyes upon them for evil, and not for good. %%% Era newakubadde nga bagenda mu busibe mu maaso g'abalabe baabwe, ndiragirira eyo ekitala ne kibatta: era nditeeka amaaso gange ku bo olw'okuleeta obubi so si bulungi. 30AMO009.005 And the Lord GOD of hosts is he that toucheth the land, and it shall melt, and all that dwell therein shall mourn: and it shall rise up wholly like a flood; and shall be drowned, as by the flood of Egypt. %%% Kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akoma ku nsi n'esaanuuka, na bonna abagibeeramu baliwuubaala; era eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era erikka nate nga Omugga ogw'e Misiri; 30AMO009.006 It is he that buildeth his stories in the heaven, and hath founded his troop in the earth; he that calleth for the waters of the sea, and poureth them out upon the face of the earth: The LORD is his name. %%% ye wuuyo azimba amayu ge mu ggulu, era eyateekawo ebbanga lye ku ttaka; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olunalu; Mukama lye linnya lye. 30AMO009.007 Are ye not as children of the Ethiopians unto me, O children of Israel? saith the LORD. Have not I brought up Israel out of the land of Egypt? and the Philistines from Caphtor, and the Syrians from Kir? %%% Mmwe temuli ng'abaana b'Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. Saggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri ne mbalinnyisa, ne nziya Abafirisuuti e Kafutoli, n'Abasuuli e Kiri? 30AMO009.008 Behold, the eyes of the Lord GOD are upon the sinful kingdom, and I will destroy it from off the face of the earth; saving that I will not utterly destroy the house of Jacob, saith the LORD. %%% Laba, amaaso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibi, era ndibuzikiriza okuva ku maaso g'ettaka; kyokka sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama. 30AMO009.009 For, lo, I will command, and I will sift the house of Israel among all nations, like as corn is sifted in a sieve, yet shall not the least grain fall upon the earth. %%% Kubanga, laba, ndiragira era ndiwewera ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ewewerwa mu lugali, naye tewaliba na kaweke na kamu akaligwa ku ttaka. 30AMO009.010 All the sinners of my people shall die by the sword, which say, The evil shall not overtake nor prevent us. %%% Abalina ebibi bonna ab'omu bantu bange balifa n'ekitala aboogera nti Obubi tebulitutuukako so tebulitukulembera. 30AMO009.011 In that day will I raise up the tabernacle of David that is fallen, and close up the breaches thereof; and I will raise up his ruins, and I will build it as in the days of old: %%% Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwa, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwa, era ndigizimba nga mu nnaku ez'edda; 30AMO009.012 That they may possess the remnant of Edom, and of all the heathen, which are called by my name, saith the LORD that doeth this. %%% balyoke balye ekitundu kya Edomu ekifisseewo, n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange, bw'ayogera Mukama akola kino. 30AMO009.013 Behold, the days come, saith the LORD, that the plowman shall overtake the reaper, and the treader of grapes him that soweth seed; and the mountains shall drop sweet wine, and all the hills shall melt. %%% Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bwonna bulisaanuuka. 30AMO009.014 And I will bring again the captivity of my people of Israel, and they shall build the waste cities, and inhabit them; and they shall plant vineyards, and drink the wine thereof; they shall also make gardens, and eat the fruit of them. %%% Era ndikomyawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu. 30AMO009.015 And I will plant them upon their land, and they shall no more be pulled up out of their land which I have given them, saith the LORD thy God. %%% Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bw'ayogera Mukama Katonda wo. 31OBA001.001 The vision of Obadiah. Thus saith the Lord GOD concerning Edom; We have heard a rumour from the LORD, and an ambassador is sent among the heathen, Arise ye, and let us rise up against her in battle. %%% Okwolesebwa kwa Obadiya. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku Edomu; nti Tuwulidde ebigambo ebiva eri Mukama n’omubaka atumiddwa eri amawanga nti Muyimuke, tuyimuke ku nsi ye tulwane naye. 31OBA001.002 Behold, I have made thee small among the heathen: thou art greatly despised. %%% Laba, nkufudde omuto mu mawanga; onyoomebwa nnyo ggwe. 31OBA001.003 The pride of thine heart hath deceived thee, thou that dwellest in the clefts of the rock, whose habitation is high; that saith in his heart, Who shall bring me down to the ground? %%% Amalala ag'omu mutima gwo gakukyamizza, ggwe azimba mu biwuku eby'omu lwazi, ggwe atuula waggulu; ayogera mu mutima gwe nti Ani alinzisa wansi? 31OBA001.004 Though thou exalt thyself as the eagle, and though thou set thy nest among the stars, thence will I bring thee down, saith the LORD. %%% Newakubadde ng'olinnya mu ggulu ng'empungu era ekisu kyo nga kiteekebwa wakati mu munnyeenye, ndikussa wansi ove eyo; bw'ayogera Mukama. 31OBA001.005 If thieves came to thee, if robbers by night, (how art thou cut off!) would they not have stolen till they had enough? if the grapegatherers came to thee, would they not leave some grapes? %%% Oba ababbi bajja gy'oli, oba abanyazi ekiro (so nga ozikirira!) tebandibbye bya kubamala? oba abanozi b'ezabbibu bajja gy'oli, tebandirese zabbibu ezeerebwawo? 31OBA001.006 How are the things of Esau searched out! how are his hidden things sought up! %%% Ebya Esawu nga binoonyezebwa, ebikwekebwa ye nga bivumbuka! 31OBA001.007 All the men of thy confederacy have brought thee even to the border: the men that were at peace with thee have deceived thee, and prevailed against thee; they that eat thy bread have laid a wound under thee: there is none understanding in him. %%% Abantu bonna abaalagaana gy'oli bakuwerekedde okutuuka ku nsalo; abantu abaali balina emirembe naawe bakukyamizza era bakulemye; abaalya emmere yo batega omutego wansi wo; so temuli kutegeera mu ye. 31OBA001.008 Shall I not in that day, saith the LORD, even destroy the wise men out of Edom, and understanding out of the mount of Esau? %%% Ku lunaku luli sigenda kuzikiriza abagezigezi bave mu Edomu n'okutegeera kuve mu lusozi lwa Esawu? bw'ayogera Mukama. 31OBA001.009 And thy mighty men, O Teman, shall be dismayed, to the end that every one of the mount of Esau may be cut off by slaughter. %%% Era abazira bo; ggwe Temani, balyekanga buli muntu alyoke aggibwe mu lusozi lwa Esawu era attibwe. 31OBA001.010 For thy violence against thy brother Jacob shame shall cover thee, and thou shalt be cut off for ever. %%% Kubanga wagirira amaanyi muganda wo Yakobo, ensonyi zirikukwata era oliggibwawo emirembe gyonna. 31OBA001.011 In the day that thou stoodest on the other side, in the day that the strangers carried away captive his forces, and foreigners entered into his gates, and cast lots upon Jerusalem, even thou wast as one of them. %%% Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunaku abayise lwe baanyaga ebintu bye n'abagenyi lwe baayingira mu nzigi ze eza wankaaki ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe n'ofaanana ng'omu ku abo. 31OBA001.012 But thou shouldest not have looked on the day of thy brother in the day that he became a stranger; neither shouldest thou have rejoiced over the children of Judah in the day of their destruction; neither shouldest thou have spoken proudly in the day of distress. %%% Naye totunuulira lunaku lwa muganda wo ku lunaku olw'okugwirwako akabi, so tosanyuka olw'abaana ba Yuda ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe; so teweekuza n'akamwa ko ku lunaku olw'akabi. 31OBA001.013 Thou shouldest not have entered into the gate of my people in the day of their calamity; yea, thou shouldest not have looked on their affliction in the day of their calamity, nor have laid hands on their substance in the day of their calamity; %%% Toyingiranga mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku mwe balirabira ennaku; so naawe totunuuliranga kabi kaabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku so temukomanga ku bintu byabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku. 31OBA001.014 Neither shouldest thou have stood in the crossway, to cut off those of his that did escape; neither shouldest thou have delivered up those of his that did remain in the day of distress. %%% So toyimiriranga mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawona; so towangayo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi. 31OBA001.015 For the day of the LORD is near upon all the heathen: as thou hast done, it shall be done unto thee: thy reward shall return upon thine own head. %%% Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna: nga bwe wakola bwe kityo bwe kirikukolebwa ggwe; by'okola biridda ku mutwe gwo. 31OBA001.016 For as ye have drunk upon my holy mountain, so shall all the heathen drink continually, yea, they shall drink, and they shall swallow down, and they shall be as though they had not been. %%% Kubanga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga ennaku zonna; weewaawo, ganaanywanga ganaamiranga galiba ng'agatabangawo. 31OBA001.017 But upon mount Zion shall be deliverance, and there shall be holiness; and the house of Jacob shall possess their possessions. %%% Naye ku lusozi Sayuuni kulibaako abawona, era luliba lutukuvu; n'ennyumba ya Yakobo eriba n'ebintu byabwe. 31OBA001.018 And the house of Jacob shall be a fire, and the house of Joseph a flame, and the house of Esau for stubble, and they shall kindle in them, and devour them; and there shall not be any remaining of the house of Esau; for the LORD hath spoken it. %%% Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro n'ennyumba ya Esawu nsambu, nabo balyaka gye bali, balibazikiriza; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde. 31OBA001.019 And they of the south shall possess the mount of Esau; and they of the plain the Philistines: and they shall possess the fields of Ephraim, and the fields of Samaria: and Benjamin shall possess Gilead. %%% N'olusozi lwa Esawu lulifuuka lw'abo ab'obukiika obwa ddyo; ensi y'Abafirisuuti eriba y'abo ab'ensenyi; era bo balirya ennimiro ya Efulayimu, n'ennimiro ey'e Samaliya: era Gireyaadi eriba ya Benyamini. 31OBA001.020 And the captivity of this host of the children of Israel shall possess that of the Canaanites, even unto Zarephath; and the captivity of Jerusalem, which is in Sepharad, shall possess the cities of the south. %%% N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abafugibwa obuddu abali mu Bakanani, baliba n'ensi okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu Yerusaalemi abafugibwa obuddu abali mu Sefalaadi baliba n'ebibuga eby'obukiika obwa ddyo. 31OBA001.021 And saviours shall come up on mount Zion to judge the mount of Esau; and the kingdom shall be the LORD's. %%% Era abalokozi balirinnya ku lusozi Sayuuni basalire olusozi lwa Esawu omusango; n'obwakabaka buliba bwa Mukama. 32JON001.001 Now the word of the LORD came unto Jonah the son of Amittai, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama kyajja eri Yona, omwana wa Amittayi, nga kyogera nti 32JON001.002 Arise, go to Nineveh, that great city, and cry against it; for their wickedness is come up before me. %%% Golokoka, ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire; kubanga obubi bwabwe bulinnye butuuse mu maaso gange. 32JON001.003 But Jonah rose up to flee unto Tarshish from the presence of the LORD, and went down to Joppa; and he found a ship going to Tarshish: so he paid the fare thereof, and went down into it, to go with them unto Tarshish from the presence of the LORD. %%% Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama; n'aserengeta e Yopa n'alaba ekyombo nga kigenda e Talusiisi; awo n'abawa empooza yaakyo n'asaabala omwo agende nabo e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama. 32JON001.004 But the LORD sent out a great wind into the sea, and there was a mighty tempest in the sea, so that the ship was like to be broken. %%% Naye Mukama n'asindika empewo ennyingi ku nnyanja, omuyaga omungi ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka. 32JON001.005 Then the mariners were afraid, and cried every man unto his god, and cast forth the wares that were in the ship into the sea, to lighten it of them. But Jonah was gone down into the sides of the ship; and he lay, and was fast asleep. %%% N'abo abaavuga ne batya ne bakaabirira buli muntu katonda we; ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo. 32JON001.006 So the shipmaster came to him, and said unto him, What meanest thou, O sleeper? arise, call upon thy God, if so be that God will think upon us, that we perish not. %%% Awo omugoba w'ekyombo n'ajja gy'ali n'amugamba nti Obadde otya, ggwe omwebasi? golokoka, osabe Katonda wo, era mpozzi Katonda anaatujjukira tuleme okuzikirira. 32JON001.007 And they said every one to his fellow, Come, and let us cast lots, that we may know for whose cause this evil is upon us. So they cast lots, and the lot fell upon Jonah. %%% Ne boogera buli muntu ne muganda we nti Jjangu tukube akalulu tulyoke tutegeere gwe tulangibwa akabi kano okutubaako. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona. 32JON001.008 Then said they unto him, Tell us, we pray thee, for whose cause this evil is upon us; What is thine occupation? and whence comest thou? what is thy country? and of what people art thou? %%% Awo ne bamugamba nti Kale tubuulire gwe tulangibwa akabi kano okutubaako; omulimu gwo mulimu ki? ova wa? ensi yammwe nsi ki? ekika kyammwe kika ki? 32JON001.009 And he said unto them, I am an Hebrew; and I fear the LORD, the God of heaven, which hath made the sea and the dry land. %%% N'abagamba nti Ndi Mwebbulaniya; ntya Mukama, Katonda ow'omu ggulu eyakola ennyanja n'olukalu. 32JON001.010 Then were the men exceedingly afraid, and said unto him, Why hast thou done this? For the men knew that he fled from the presence of the LORD, because he had told them. %%% Awo abantu ne batya nnyo ne bamugamba nti Kino kiki ky'okoze ggwe? Kubanga abantu baamanya nti adduse mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'ababuulidde. 32JON001.011 Then said they unto him, What shall we do unto thee, that the sea may be calm unto us? for the sea wrought, and was tempestuous. %%% Awo ne bamugamba nti Tunaakukola tutya ennyanja etuteekere? kubanga ennyanja yali ng'egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo. 32JON001.012 And he said unto them, Take me up, and cast me forth into the sea; so shall the sea be calm unto you: for I know that for my sake this great tempest is upon you. %%% N'abagamba nti Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera; kubanga mmanyi nti omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze. 32JON001.013 Nevertheless the men rowed hard to bring it to the land; but they could not: for the sea wrought, and was tempestuous against them. %%% Naye abantu ne bavuga nnyo okuddayo okugoba ettale; naye ne batayinza; kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka okubaziyiza. 32JON001.014 Wherefore they cried unto the LORD, and said, We beseech thee, O LORD, we beseech thee, let us not perish for this man's life, and lay not upon us innocent blood: for thou, O LORD, hast done as it pleased thee. %%% Kyebaava bakaabirira Mukama ne boogera nti Tukwegayiridde, ai Mukama, tukwegayiridde tuleme okuzikirira ku lw'obulamu obw'omuntu ono; so totussaako musaayi ogutaliiko musango; kubanga ggwe, ai Mukama, ggwe okoze ky'oyagala. 32JON001.015 So they took up Jonah, and cast him forth into the sea: and the sea ceased from her raging. %%% Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja; awo omuyaga ogwali ku nnyanja ne gufa. 32JON001.016 Then the men feared the LORD exceedingly, and offered a sacrifice unto the LORD, and made vows. %%% Awo abantu ne batya nnyo Mukama; ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama ne beeyama obweyamo. 32JON001.017 Now the LORD had prepared a great fish to swallow up Jonah. And Jonah was in the belly of the fish three days and three nights. %%% Mukama n'ateekateeka ekyennyanja ekinene kimire Yona; Yona n'amala mu lubuto olw'ekyennyanja ennakn ssatu emisana n'ekiro. 32JON002.001 Then Jonah prayed unto the LORD his God out of the fish's belly, %%% Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we mu lubuto olw'ekyennyanja. 32JON002.002 And said, I cried by reason of mine affliction unto the LORD, and he heard me; out of the belly of hell cried I, and thou heardest my voice. %%% N'ayogera nti Nakaabirira Mukama kubanga nalaba ennaku, N'anziramu; Mu lubuto lw'emagombe nakoowoola; N'owulira eddoboozi lyange. 32JON002.003 For thou hadst cast me into the deep, in the midst of the seas; and the floods compassed me about: all thy billows and thy waves passed over me. %%% Kubanga wansuula mu buziba, mu mutima ogw'ennyanja, Amataba ne ganneetooloola; Amayengo go gonna n'amasingiisira go gaayita waggulu ku nze. 32JON002.004 Then I said, I am cast out of thy sight; yet I will look again toward thy holy temple. %%% Ne njogera nti Ngobeddwa mu maaso go; Naye naatunuulira nate yeekaalu yo entukuvu. 32JON002.005 The waters compassed me about, even to the soul: the depth closed me round about, the weeds were wrapped about my head. %%% Amazzi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu; Obuziba bwanneetooloola; Endago zambikka ku mutwe gwange. 32JON002.006 I went down to the bottoms of the mountains; the earth with her bars was about me for ever: yet hast thou brought up my life from corruption, O LORD my God. %%% Ne nzika ensozi we zisibuka; Ensi n'ebisiba byayo ne binzigalira emirembe gyonna; Naye oggyeemu obulamu bwange mu bunnya, ai Mukama, Katonda wange. 32JON002.007 When my soul fainted within me I remembered the LORD: and my prayer came in unto thee, into thine holy temple. %%% Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne njijukira Mukama; N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu. 32JON002.008 They that observe lying vanities forsake their own mercy. %%% Abo abassaayo omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu balekayo okusaasirwa kwabwe. 32JON002.009 But I will sacrifice unto thee with the voice of thanksgiving; I will pay that that I have vowed. Salvation is of the LORD. %%% Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n'eddoboozi ery'okwebaza; Naasasula obweyamo bwange. Obulokozi buva eri Mukama. 32JON002.010 And the LORD spake unto the fish, and it vomited out Jonah upon the dry land. %%% Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu. 32JON003.001 And the word of the LORD came unto Jonah the second time, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw'okubiri, nga kyogera nti 32JON003.002 Arise, go unto Nineveh, that great city, and preach unto it the preaching that I bid thee. %%% Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkugamba. 32JON003.003 So Jonah arose, and went unto Nineveh, according to the word of the LORD. Now Nineveh was an exceeding great city of three days' journey. %%% Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini olugendo lwa nnaku ssatu okukibunya. 32JON003.004 And Jonah began to enter into the city a day's journey, and he cried, and said, Yet forty days, and Nineveh shall be overthrown. %%% Yona n'asooka okuyingira mu kibuga n'atambula olugendo lwa lunaku lumu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira. 32JON003.005 So the people of Nineveh believed God, and proclaimed a fast, and put on sackcloth, from the greatest of them even to the least of them. %%% Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto. 32JON003.006 For word came unto the king of Nineveh, and he arose from his throne, and he laid his robe from him, and covered him with sackcloth, and sat in ashes. %%% Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n'atuula mu vvu. 32JON003.007 And he caused it to be proclaimed and published through Nineveh by the decree of the king and his nobles, saying, Let neither man nor beast, herd nor flock, taste any thing: let them not feed, nor drink water: %%% N'alangirira n'abuulira okubunya Nineeve olw'etteeka lya kabaka n'abakungu be, n'agamba nti Omuntu n'ensolo, eggana n'ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n'okunywa amazzi; 32JON003.008 But let man and beast be covered with sackcloth, and cry mightily unto God: yea, let them turn every one from his evil way, and from the violence that is in their hands. %%% naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo lyakyo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo. 32JON003.009 Who can tell if God will turn and repent, and turn away from his fierce anger, that we perish not? %%% Ani amanyi nga Katonda alikyuka alyejjusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira? 32JON003.010 And God saw their works, that they turned from their evil way; and God repented of the evil, that he had said that he would do unto them; and he did it not. %%% Katonda n'alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n'atabubakola. 32JON004.001 But it displeased Jonah exceedingly, and he was very angry. %%% Naye Yona n'atasiima n'akatono n'anyiikaala. 32JON004.002 And he prayed unto the LORD, and said, I pray thee, O LORD, was not this my saying, when I was yet in my country? Therefore I fled before unto Tarshish: for I knew that thou art a gracious God, and merciful, slow to anger, and of great kindness, and repentest thee of the evil. %%% N'asaba Mukama n'ayogera nti Nkusaba, ai Mukama, saayogera bwe ntyo nga nkyali mu nsi y'ewaffe. Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi; kubanga nategeera nti oli Katonda mulungi ajjudde okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubi. 32JON004.003 Therefore now, O LORD, take, I beseech thee, my life from me; for it is better for me to die than to live. %%% Kale nno, ai Mukama, nkwegayiridde, onziyeko obulamu bwange; kubanga waakiri nfe okusinga okuba omulamu. 32JON004.004 Then said the LORD, Doest thou well to be angry? %%% Mukama n'ayogera nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala? 32JON004.005 So Jonah went out of the city, and sat on the east side of the city, and there made him a booth, and sat under it in the shadow, till he might see what would become of the city. %%% Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku luuyi olw'ekibuga olwolekedde ebuvanjuba n'asiisira eyo ekisiisira n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo okutuusa lw'aliraba ekibuga bwe kiriba. 32JON004.006 And the LORD God prepared a gourd, and made it to come up over Jonah, that it might be a shadow over his head, to deliver him from his grief. So Jonah was exceeding glad of the gourd. %%% Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo. 32JON004.007 But God prepared a worm when the morning rose the next day, and it smote the gourd that it withered. %%% Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obudde bwe bwakya enkya, ne kiruma ekiryo ne kiwotoka. 32JON004.008 And it came to pass, when the sun did arise, that God prepared a vehement east wind; and the sun beat upon the head of Jonah, that he fainted, and wished in himself to die, and said, It is better for me to die than to live. %%% Awo olwatuuka enjuba bwe yavaayo, Katonda n'ategeka embuyaga ez'obuvanjuba ez'olubugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe gwe, n'azirika n'asaba afe, n'ayogera nti Waakiri nfe okusinga okuba omulamu. 32JON004.009 And God said to Jonah, Doest thou well to be angry for the gourd? And he said, I do well to be angry, even unto death. %%% Katonda n'agamba Yona nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo? N'ayogera nti Nkoze bulungi okusunguwala okutuusa lwe ndifa. 32JON004.010 Then said the LORD, Thou hast had pity on the gourd, for the which thou hast not laboured, neither madest it grow; which came up in a night, and perished in a night: %%% Mukama n'ayogera nti Osaasidde ekiryo kyotaakolera mulimu so ky'otaameza; ekyamerera ekiro ekimu, ne kibulira ekiro ekimu; 32JON004.011 And should not I spare Nineveh, that great city, wherein are more than sixscore thousand persons that cannot discern between their right hand and their left hand; and also much cattle? %%% nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n'okusukkirirawo abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n'omukono gwabwe ogwa kkono; era n'ensolo ennyingi? 33MIC001.001 The word of the LORD that came to Micah the Morasthite in the days of Jotham, Ahaz, and Hezekiah, kings of Judah, which he saw concerning Samaria and Jerusalem. %%% Ekigambo kya Mukama ekyaja eri Mikka, Omumolasuuti, mu mirembe gya Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, kye yalaba ku Samaliya ne ku Yerusaalemi. 33MIC001.002 Hear, all ye people; hearken, O earth, and all that therein is: and let the Lord GOD be witness against you, the LORD from his holy temple. %%% Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n'ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abe mujulirwa eri mmwe, Mukama ng'ayima mu yeekaalu ye entukuvu. 33MIC001.003 For, behold, the LORD cometh forth out of his place, and will come down, and tread upon the high places of the earth. %%% Kubanga, laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi. 33MIC001.004 And the mountains shall be molten under him, and the valleys shall be cleft, as wax before the fire, and as the waters that are poured down a steep place. %%% N'ensozi zirisaanuuka wansi we n'enkonko ziryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maaso g'omuliro, ng'amazzi agayiikira awali ebbanga. 33MIC001.005 For the transgression of Jacob is all this, and for the sins of the house of Israel. What is the transgression of Jacob? is it not Samaria? and what are the high places of Judah? are they not Jerusalem? %%% Olw'okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? si Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi? 33MIC001.006 Therefore I will make Samaria as an heap of the field, and as plantings of a vineyard: and I will pour down the stones thereof into the valley, and I will discover the foundations thereof. %%% Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ng'ebizabbibu ebisimbe; nange ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo. 33MIC001.007 And all the graven images thereof shall be beaten to pieces, and all the hires thereof shall be burned with the fire, and all the idols thereof will I lay desolate: for she gathered it of the hire of an harlot, and they shall return to the hire of an harlot. %%% Ebifaananyi byakyo byonna birisekulwasekulwa n'empeera zaakyo zonna ziryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yazikuŋŋaanya nga ziva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi. 33MIC001.008 Therefore I will wail and howl, I will go stripped and naked: I will make a wailing like the dragons, and mourning as the owls. %%% Kyendiva mpowoggana, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambudde engoye zange era nga ndi bwereere; ndikaaba ng'ebibe, ndijoonajoona nga bamaaya. 33MIC001.009 For her wound is incurable; for it is come unto Judah; he is come unto the gate of my people, even to Jerusalem. %%% Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi. 33MIC001.010 Declare ye it not at Gath, weep ye not at all: in the house of Aphrah roll thyself in the dust. %%% Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba amaziga n'akatono: ku Besuleyafula nneekulukuunyizza mu nfuufu. 33MIC001.011 Pass ye away, thou inhabitant of Saphir, having thy shame naked: the inhabitant of Zaanan came not forth in the mourning of Bethezel; he shall receive of you his standing. %%% Muyite muveeyo, ggwe abeera mu Safiri, ng'oli bwereere, era ng'okwatibwa ensonyi; oyo abeera mu Zanani tavuddeemu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikuggyako ekikondo kyakyo. 33MIC001.012 For the inhabitant of Maroth waited carefully for good: but evil came down from the LORD unto the gate of Jerusalem. %%% Kubanga oyo abeera mu Malosi yeeraliikirira ng'alindirira ebirungi; kubanga akabi kasse, kavudde eri Mukama ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi. 33MIC001.013 O thou inhabitant of Lachish, bind the chariot to the swift beast: she is the beginning of the sin to the daughter of Zion: for the transgressions of Israel were found in thee. %%% Siba eggaali ku mbalaasi esinga embiro, ggwe abeera mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookera eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byalabika mu ggwe. 33MIC001.014 Therefore shalt thou give presents to Moreshethgath: the houses of Achzib shall be a lie to the kings of Israel. %%% Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, eky'okusiibula; ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri. 33MIC001.015 Yet will I bring an heir unto thee, O inhabitant of Mareshah: he shall come unto Adullam the glory of Israel. %%% Nkyagenda okuleeta gy'oli, ggwe abeera mu Malesa, oyo aliba nnannyini ggwe; ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka era ku Adulamu. 33MIC001.016 Make thee bald, and poll thee for thy delicate children; enlarge thy baldness as the eagle; for they are gone into captivity from thee. %%% Weemwe osalire enviiri abaana abakusanyusa; gaziya ekiwalaata kyo ng'empungu; kubanga bakuggiddwako bagenze mu kusibibwa. 33MIC002.001 Woe to them that devise iniquity, and work evil upon their beds! when the morning is light, they practise it, because it is in the power of their hand. %%% Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku biriri byabwe! obudde bwe bukva, babukola, kubanga buli mu buyinza bw'emikono gyabwe. 33MIC002.002 And they covet fields, and take them by violence; and houses, and take them away: so they oppress a man and his house, even a man and his heritage. %%% N'abo abeegomba ebyalo ne babinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe. 33MIC002.003 Therefore thus saith the LORD; Behold, against this family do I devise an evil, from which ye shall not remove your necks; neither shall ye go haughtily: for this time is evil. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggyamu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga bino bye biro ebibi. 33MIC002.004 In that day shall one take up a parable against you, and lament with a doleful lamentation, and say, We be utterly spoiled: he hath changed the portion of my people: how hath he removed it from me! turning away he hath divided our fields. %%% Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange; ng'akinziyako! agabira abajeemu ebyalo byaffe. 33MIC002.005 Therefore thou shalt have none that shall cast a cord by lot in the congregation of the LORD. %%% Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omugwa, akalulu bwe kamugwako, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. 33MIC002.006 Prophesy ye not, say they to them that prophesy: they shall not prophesy to them, that they shall not take shame. %%% Temulagulanga, bwe batyo bwe balagula. Tebaliragulira abo; ebivume tebiriggibwawo; 33MIC002.007 O thou that art named the house of Jacob, is the spirit of the LORD straitened? are these his doings? do not my words do good to him that walketh uprightly? %%% kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo, nti Omwoyo gwa Mukama gufunze? bino bye bikolwa bye? Ebigambo byange tebiwoomera oyo atambula n'obugolokofu? 33MIC002.008 Even of late my people is risen up as an enemy: ye pull off the robe with the garment from them that pass by securely as men averse from war. %%% Naye mu nnaku zino abantu bange bayimuse ng'abalabe; muggyako essuuka ku ngoye z'abo abayita nga tebaliiko kye batya, ng'abantu abatayagala kulwana. 33MIC002.009 The women of my people have ye cast out from their pleasant houses; from their children have ye taken away my glory for ever. %%% Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; ku baana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna. 33MIC002.010 Arise ye, and depart; for this is not your rest: because it is polluted, it shall destroy you, even with a sore destruction. %%% Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'empitambi ezikiriza, era n'okuzikiriza okutenkanika. 33MIC002.011 If a man walking in the spirit and falsehood do lie, saying, I will prophesy unto thee of wine and of strong drink; he shall even be the prophet of this people. %%% Omuntu atambula n'omwoyo ogw'okulimba, bw'alimba ng'ayogera nti Ndikulagulira eby'omwenge n'ebitamiiza, ye aliba omulaguzi ow'abantu bano. 33MIC002.012 I will surely assemble, O Jacob, all of thee; I will surely gather the remnant of Israel; I will put them together as the sheep of Bozrah, as the flock in the midst of their fold: they shall make great noise by reason of the multitude of men. %%% Sirirema kukuŋŋaanya ab'ewammwe bonna, ggwe Yakobo; sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng'endiga eza Bozula; ng'ekisibo ekiri wakati w'eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi. 33MIC002.013 The breaker is come up before them: they have broken up, and have passed through the gate, and are gone out by it: and their king shall pass before them, and the LORD on the head of them. %%% Oyo awagula ayambuse mu maaso gaabwe; bawagudde bayise batuuse ku luggi olwa wankaaki, era bafulumidde omwo; era kabaka waabwe ayise mu maaso gaabwe, Mukama abakulembedde. 33MIC003.001 And I said, Hear, I pray you, O heads of Jacob, and ye princes of the house of Israel; Is it not for you to know judgment? %%% Ne njogera nti Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri; si kwammwe okumanya omusango? 33MIC003.002 Who hate the good, and love the evil; who pluck off their skin from off them, and their flesh from off their bones; %%% abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; ababaggyako eddiba lyabwe n'omubiri gwabwe ku magumba gaabwe; 33MIC003.003 Who also eat the flesh of my people, and flay their skin from off them; and they break their bones, and chop them in pieces, as for the pot, and as flesh within the caldron. %%% era abalya omubiri gw'abantu bange; ne bababaagako eddiba lyabwe n'amagumba gaabwe bagamenya; weewaawo, babatiimatiima ng'ebigenda mu kibya, era ng'ennyama ey'omu ntamu. 33MIC003.004 Then shall they cry unto the LORD, but he will not hear them: he will even hide his face from them at that time, as they have behaved themselves ill in their doings. %%% Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tebaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola obubi mu bikolwa byabwe. 33MIC003.005 Thus saith the LORD concerning the prophets that make my people err, that bite with their teeth, and cry, Peace; and he that putteth not into their mouths, they even prepare war against him. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bannabbi abakyamya abantu bange; abaluma n'amannyo gaabwe, era bayogerera waggulu nti Mirembe; na buli agaana okuwa mu bumwa bwabwe, n'okukuma bamukumira olutalo; nti 33MIC003.006 Therefore night shall be unto you, that ye shall not have a vision; and it shall be dark unto you, that ye shall not divine; and the sun shall go down over the prophets, and the day shall be dark over them. %%% Kyekiriva kibeera ekiro gye muli, muleme okwolesebwa; era ekizikiza kiriba gye muli, muleme okulagula; era enjuba erigwira bannabbi, era obudde buliddugala ku bo. 33MIC003.007 Then shall the seers be ashamed, and the diviners confounded: yea, they shall all cover their lips; for there is no answer of God. %%% N'abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kwa Katonda. 33MIC003.008 But truly I am full of power by the spirit of the LORD, and of judgment, and of might, to declare unto Jacob his transgression, and to Israel his sin. %%% Naye mazima nze njijudde amaanyi olw'omwoyo gwa Mukama, n'omusango n'obuzira, mbuulire Yakobo okwonoona kwe era mbuulire Isiraeri ebibi bye: 33MIC003.009 Hear this, I pray you, ye heads of the house of Jacob, and princes of the house of Israel, that abhor judgment, and pervert all equity. %%% Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango, era abalya ensonga zonna. 33MIC003.010 They build up Zion with blood, and Jerusalem with iniquity. %%% Bazimba Sayuuni n'omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n'obukyamu. 33MIC003.011 The heads thereof judge for reward, and the priests thereof teach for hire, and the prophets thereof divine for money: yet will they lean upon the LORD, and say, Is not the LORD among us? none evil can come upon us. %%% Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe effeeza; naye bo balyesigama ku Mukama nga boogera nti Mukama tali wakati waffe? akabi tekalitutuukako. 33MIC003.012 Therefore shall Zion for your sake be plowed as a field, and Jerusalem shall become heaps, and the mountain of the house as the high places of the forest. %%% Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'omutala ku bwammwe, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n'olusozi olw'ennyumba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira. 33MIC004.001 But in the last days it shall come to pass, that the mountain of the house of the LORD shall be established in the top of the mountains, and it shall be exalted above the hills; and people shall flow unto it. %%% Naye mu nnaku ez'oluvannyuma olulituuka olusozi olw'ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y'ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu. 33MIC004.002 And many nations shall come, and say, Come, and let us go up to the mountain of the LORD, and to the house of the God of Jacob; and he will teach us of his ways, and we will walk in his paths: for the law shall go forth of Zion, and the word of the LORD from Jerusalem. %%% Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby'enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 33MIC004.003 And he shall judge among many people, and rebuke strong nations afar off; and they shall beat their swords into plowshares, and their spears into pruninghooks: nation shall not lift up a sword against nation, neither shall they learn war any more. %%% Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate. 33MIC004.004 But they shall sit every man under his vine and under his fig tree; and none shall make them afraid: for the mouth of the LORD of hosts hath spoken it. %%% Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama w'eggye ke kakyogedde. 33MIC004.005 For all people will walk every one in the name of his god, and we will walk in the name of the LORD our God for ever and ever. %%% Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe. 33MIC004.006 In that day, saith the LORD, will I assemble her that halteth, and I will gather her that is driven out, and her that I have afflicted; %%% Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuŋŋaanya omukazi awenyera, era ndireeta oyo agobebwa n'oyo gwe nnalabisa ennaku; 33MIC004.007 And I will make her that halted a remnant, and her that was cast far off a strong nation: and the LORD shall reign over them in mount Zion from henceforth, even for ever. %%% era ndifuula oyo eyawenyera ekitundu ekyasigalawo n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna, 33MIC004.008 And thou, O tower of the flock, the strong hold of the daughter of Zion, unto thee shall it come, even the first dominion; the kingdom shall come to the daughter of Jerusalem. %%% Era naawe, ggwe ekigo eky'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, kulituuka gy'oli; weewaawo; okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka obw'omuwala wa Yerusaalemi. 33MIC004.009 Now why dost thou cry out aloud? is there no king in thee? is thy counsellor perished? for pangs have taken thee as a woman in travail. %%% Lwaki nno okukaaba ennyo? tewali kabaka gy'oli, omuteesa wo abula? obubalagaze ne bukukwata nga omukazi alumwa okuzaala. 33MIC004.010 Be in pain, and labour to bring forth, O daughter of Zion, like a woman in travail: for now shalt thou go forth out of the city, and thou shalt dwell in the field, and thou shalt go even to Babylon; there shalt thou be delivered; there the LORD shall redeem thee from the hand of thine enemies. %%% Lumibwa, sindika, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babulooni; eyo gy'orokokera; eyo Mukama gy'alinunulira mu mukono gw'abalabe bo. 33MIC004.011 Now also many nations are gathered against thee, that say, Let her be defiled, and let our eye look upon Zion. %%% Ne kaakano amawanga magi agakuŋŋaana okulwana naawe, googera nti Ayonooneke, era amaaso affe gatunuulire ebyo bye gaagala ga bituuse ku Sayuuni. 33MIC004.012 But they know not the thoughts of the LORD, neither understand they his counsel: for he shall gather them as the sheaves into the floor. %%% Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga bakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'ettaano ku gguuliro lye. 33MIC004.013 Arise and thresh, O daughter of Zion: for I will make thine horn iron, and I will make thy hoofs brass: and thou shalt beat in pieces many people: and I will consecrate their gain unto the LORD, and their substance unto the Lord of the whole earth. %%% Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaameya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna. 33MIC005.001 Now gather thyself in troops, O daughter of troops: he hath laid siege against us: they shall smite the judge of Israel with a rod upon the cheek. %%% Kaakano oneekuŋŋaanya bibiina bibiina, ggwe omuwala w'ebibiina; atuzingizizza ffe; balikuba iluyi omulamuzi wa Isiraeri n'onuggo. 33MIC005.002 But thou, Bethlehem Ephratah, though thou be little among the thousands of Judah, yet out of thee shall he come forth unto me that is to be ruler in Israel; whose goings forth have been from of old, from everlasting. %%% Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo. 33MIC005.003 Therefore will he give them up, until the time that she which travaileth hath brought forth: then the remnant of his brethren shall return unto the children of Israel. %%% Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro alumwa okuzaala lw'alizaala: kale baganda be abasigalawo balikomawo eri abaana ba Isiraeri. 33MIC005.004 And he shall stand and feed in the strength of the LORD, in the majesty of the name of the LORD his God; and they shall abide: for now shall he be great unto the ends of the earth. %%% Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era balibeerera awo; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero z’ensi. 33MIC005.005 And this man shall be the peace, when the Assyrian shall come into our land: and when he shall tread in our palaces, then shall we raise against him seven shepherds, and eight principal men. %%% Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu nsi y'ewaff'e, bw'alitanbula mu mayumba gaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n’abantu munaana ab'ekitiibwa. 33MIC005.006 And they shall waste the land of Assyria with the sword, and the land of Nimrod in the entrances thereof: thus shall he deliver us from the Assyrian, when he cometh into our land, and when he treadeth within our borders. %%% Nabo balyonoona ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe baliba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaffe era bw'alitambula mu nsalo z'ewaffe. 33MIC005.007 And the remnant of Jacob shall be in the midst of many people as a dew from the LORD, as the showers upon the grass, that tarrieth not for man, nor waiteth for the sons of men. %%% Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo. 33MIC005.008 And the remnant of Jacob shall be among the Gentiles in the midst of many people as a lion among the beasts of the forest, as a young lion among the flocks of sheep: who, if he go through, both treadeth down, and teareth in pieces, and none can deliver. %%% Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma mu nsolo ez'omu kibira, ng'empologoma ento mu bisibo by'endiga; bw'eyitamu, erinnyirira era etaagulataagula so tewali mulokozi. 33MIC005.009 Thine hand shall be lifted up upon thine adversaries, and all thine enemies shall be cut off. %%% Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n'abakukyawa bonna bazikirire. 33MIC005.010 And it shall come to pass in that day, saith the LORD, that I will cut off thy horses out of the midst of thee, and I will destroy thy chariots: %%% Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go; 33MIC005.011 And I will cut off the cities of thy land, and throw down all thy strong holds: %%% era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna; 33MIC005.012 And I will cut off witchcrafts out of thine hand; and thou shalt have no more soothsayers: %%% era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate; 33MIC005.013 Thy graven images also will I cut off, and thy standing images out of the midst of thee; and thou shalt no more worship the work of thine hands. %%% era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo. 33MIC005.014 And I will pluck up thy groves out of the midst of thee: so will I destroy thy cities. %%% Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. 33MIC005.015 And I will execute vengeance in anger and fury upon the heathen, such as they have not heard. %%% Era ndiwalana eggwanga n'obusungu n'ekiruyi ku mawanga agatawulira. 33MIC006.001 Hear ye now what the LORD saith; Arise, contend thou before the mountains, and let the hills hear thy voice. %%% Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera; nti Yimuka, yomba mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo. 33MIC006.002 Hear ye, O mountains, the LORD's controversy, and ye strong foundations of the earth: for the LORD hath a controversy with his people, and he will plead with Israel. %%% Muwulire, mmwe ensozi, ennyombo za Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina ennyombo n'abantu be, aliwoza ne Isiraeri. 33MIC006.003 O my people, what have I done unto thee? and wherein have I wearied thee? testify against me. %%% Mmwe abantu bange, mbakoze ki? nali mbakooyezza naki? munnumirize. 33MIC006.004 For I brought thee up out of the land of Egypt, and redeemed thee out of the house of servants; and I sent before thee Moses, Aaron, and Miriam. %%% Kubanga nakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu. 33MIC006.005 O my people, remember now what Balak king of Moab consulted, and what Balaam the son of Beor answered him from Shittim unto Gilgal; that ye may know the righteousness of the LORD. %%% Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama. 33MIC006.006 Wherewith shall I come before the LORD, and bow myself before the high God? shall I come before him with burnt offerings, with calves of a year old? %%% Najja naki eri Mukama ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamaze omwaka gumu? 33MIC006.007 Will the LORD be pleased with thousands of rams, or with ten thousands of rivers of oil? shall I give my firstborn for my transgression, the fruit of my body for the sin of my soul? %%% Mukama alisiima endiga eza seddume enkumi oba emigga egy'amafuta obukumi? mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange? 33MIC006.008 He hath shewed thee, O man, what is good; and what doth the LORD require of thee, but to do justly, and to love mercy, and to walk humbly with thy God? %%% Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby'ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo? 33MIC006.009 The LORD's voice crieth unto the city, and the man of wisdom shall see thy name: hear ye the rod, and who hath appointed it. %%% Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, n'ow'amagezi aliraba erinnya lyo; muwulire omuggo, n'oyo bw'ali agulagidde. 33MIC006.010 Are there yet the treasures of wickedness in the house of the wicked, and the scant measure that is abominable? %%% Ebintu eby'omuwendo eby'obubi bikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo? 33MIC006.011 Shall I count them pure with the wicked balances, and with the bag of deceitful weights? %%% Ndiba mulongoofu bwe mba ne minzaani ey'obubi n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba? 33MIC006.012 For the rich men thereof are full of violence, and the inhabitants thereof have spoken lies, and their tongue is deceitful in their mouth. %%% Kubanga abagagga baakyo bajjudde ekyejo, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe: 33MIC006.013 Therefore also will I make thee sick in smiting thee, in making thee desolate because of thy sins. %%% Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; nkuzisizza olw'ebibi byo. 33MIC006.014 Thou shalt eat, but not be satisfied; and thy casting down shall be in the midst of thee; and thou shalt take hold, but shalt not deliver; and that which thou deliverest will I give up to the sword. %%% Olirya, so tolikkuta; era okutoowazibwa kwo kuliba wakati wo; era olijjulula, naye tolitwala mirembe; era ky'otwala ndikiwaayo eri ekitala. 33MIC006.015 Thou shalt sow, but thou shalt not reap; thou shalt tread the olives, but thou shalt not anoint thee with oil; and sweet wine, but shalt not drink wine. %%% Olisiga, naye tolikungula; olirinnyirira zeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola, naye tolinywa ku mwenge. 33MIC006.016 For the statutes of Omri are kept, and all the works of the house of Ahab, and ye walk in their counsels; that I should make thee a desolation, and the inhabitants thereof an hissing: therefore ye shall bear the reproach of my people. %%% Kubanga ebyalagirwa Omuli bikuumibwa, era ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufnule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo eky'okuduulirwa; nammwe mulitwala ebivume by'abantu bange. 33MIC007.001 Woe is me! for I am as when they have gathered the summer fruits, as the grapegleanings of the vintage: there is no cluster to eat: my soul desired the firstripe fruit. %%% Zinsanze! kubanga nfaanana nga lwe bamala okulonda emmere yonna ennungi, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku; tewakyali kirimba eky'okulya; emmeeme yange yeegomba ettiini esooka okwengera. 33MIC007.002 The good man is perished out of the earth: and there is none upright among men: they all lie in wait for blood; they hunt every man his brother with a net. %%% Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu: bonna bateega okuyiwa omusaayi, bayigga buli muntu muganda we n'ekitimba. 33MIC007.003 That they may do evil with both hands earnestly, the prince asketh, and the judge asketh for a reward; and the great man, he uttereth his mischievous desire: so they wrap it up. %%% Engalo zaabwe zikwata ku by'obubi okunyiikira okubikola; omulangira asaba, omulamuzi ayagala okuweebwa empeera; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu mmeeme ye: bwe batyo bwe babirukira awamu. 33MIC007.004 The best of them is as a brier: the most upright is sharper than a thorn hedge: the day of thy watchmen and thy visitation cometh; now shall be their perplexity. %%% Oyo ku abo asinga obulungi afaanana ng'omweramannyo, omugolokofu ku abo asinga obubi olukomera lw'amaggwa: olunaku olw'abakuumi bo, lwe lw'okulabwako, lutuuse: kaakano we wanaaba okweraliikirira kwabwe. 33MIC007.005 Trust ye not in a friend, put ye not confidence in a guide: keep the doors of thy mouth from her that lieth in thy bosom. %%% Temwesiga wa mukwano, temulowoozanga mukulembeze nga mwesigwa; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo. 33MIC007.006 For the son dishonoureth the father, the daughter riseth up against her mother, the daughter in law against her mother in law; a man's enemies are the men of his own house. %%% Kubanga omwana tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; ab'omu nju be baba abalabe b'omuntu. 33MIC007.007 Therefore I will look unto the LORD; I will wait for the God of my salvation: my God will hear me. %%% Naye ku bwange naatunuuliranga Mukama; naalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange anampuliranga. 33MIC007.008 Rejoice not against me, O mine enemy: when I fall, I shall arise; when I sit in darkness, the LORD shall be a light unto me. %%% Tonsanyukirako, omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi. 33MIC007.009 I will bear the indignation of the LORD, because I have sinned against him, until he plead my cause, and execute judgment for me: he will bring me forth to the light, and I shall behold his righteousness. %%% Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango: alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe. 33MIC007.010 Then she that is mine enemy shall see it, and shame shall cover her which said unto me, Where is the LORD thy God? mine eyes shall behold her: now shall she be trodden down as the mire of the streets. %%% Kale omulabe wange alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti Mukama Katonda wo ali ludda wa? Amaaso gange galimulabako; kaakano alirinnyirirwa ng'ebitosi eby'omu nguudo. 33MIC007.011 In the day that thy walls are to be built, in that day shall the decree be far removed. %%% Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! ku lunaku luli ekiragiro kiritwalibwa ewala. 33MIC007.012 In that day also he shall come even to thee from Assyria, and from the fortified cities, and from the fortress even to the river, and from sea to sea, and from mountain to mountain. %%% Ku lunaku luli baliva mu Bwasuli ne mu bibuga bya Misiri balituuka gy'oli, era baliva mu Misiri okutuuka ne ku Mugga, n'okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi. 33MIC007.013 Notwithstanding the land shall be desolate because of them that dwell therein, for the fruit of their doings. %%% Naye ensi eriba kifulukwa, ku lw'abo ababeera omwo, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe. 33MIC007.014 Feed thy people with thy rod, the flock of thine heritage, which dwell solitarily in the wood, in the midst of Carmel: let them feed in Bashan and Gilead, as in the days of old. %%% Liisa abantu bo n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri: baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda. 33MIC007.015 According to the days of thy coming out of the land of Egypt will I shew unto him marvellous things. %%% Nga bwe nnakola mu nnaku bwe wava mu nsi ya Misiri, ndimwolesa eby'ekitalo. 33MIC007.016 The nations shall see and be confounded at all their might: they shall lay their hand upon their mouth, their ears shall be deaf. %%% Amawanga galiraba, galikwatirwa ensonyi amaanyi gaabwe gonna; baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, amatu gaabwe galiziba. 33MIC007.017 They shall lick the dust like a serpent, they shall move out of their holes like worms of the earth: they shall be afraid of the LORD our God, and shall fear because of thee. %%% Balikomba ku nfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva nga bakankana mu bwekwekero bwabwe: balijja eri Mukama Katonda waffe nga batekemuka era balitya ku lulwo. 33MIC007.018 Who is a God like unto thee, that pardoneth iniquity, and passeth by the transgression of the remnant of his heritage? he retaineth not his anger for ever, because he delighteth in mercy. %%% Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okusaasira. 33MIC007.019 He will turn again, he will have compassion upon us; he will subdue our iniquities; and thou wilt cast all their sins into the depths of the sea. %%% Alikyuka alitusaasira; alisamba okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw'ennyanja. 33MIC007.020 Thou wilt perform the truth to Jacob, and the mercy to Abraham, which thou hast sworn unto our fathers from the days of old. %%% Olikolera Yakobo amazima, olikolera Ibulayimu ekisa, bye walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda. 34NAH001.001 The burden of Nineveh. The book of the vision of Nahum the Elkoshite. %%% Omugugu gwa Nineeve. Ekitabo eky'okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi. 34NAH001.002 God is jealous, and the LORD revengeth; the LORD revengeth, and is furious; the LORD will take vengeance on his adversaries, and he reserveth wrath for his enemies. %%% Mukama ye Katonda w'obuggya, era awalana eggwanga; Mukama awalana eggwanga, era ow'obusungu obungi; Mukama awalana eggwanga abamukyawa, era aterekera abalabe be obusungu. 34NAH001.003 The LORD is slow to anger, and great in power, and will not at all acquit the wicked: the LORD hath his way in the whirlwind and in the storm, and the clouds are the dust of his feet. %%% Mukama tatera kusunguwala, alina amaanyi mangi, so talitaatira n'akatono. Ekkubo lya Mukama liyita mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ze nfuufu z'ebigere bye. 34NAH001.004 He rebuketh the sea, and maketh it dry, and drieth up all the rivers: Bashan languisheth, and Carmel, and the flower of Lebanon languisheth. %%% Akangavvula ennyanja n'agikaza; era akaza emigga gyonna; Basani ebabuse ne Kalumeeri, era ekimuli eky'oku Lebanooni kibabuse. 34NAH001.005 The mountains quake at him, and the hills melt, and the earth is burned at his presence, yea, the world, and all that dwell therein. %%% Ensozi zikankana gy'ali, obusozi ne busaanuuka; era ettaka ne limmuka mu maaso ge; weewaawo, ensi zonna ne bonna abazibeeramu. 34NAH001.006 Who can stand before his indignation? and who can abide in the fierceness of his anger? his fury is poured out like fire, and the rocks are thrown down by him. %%% Mu maaso g'obusungu bwe ani ayinza okuyimirira? ani ayinza okubeerawo obusungu bwe nga bunyiikidde? obukambwe bwe bufukibwa ng'omuliro, n'enjazi zimenyebwamenyebwa ye. 34NAH001.007 The LORD is good, a strong hold in the day of trouble; and he knoweth them that trust in him. %%% Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga. 34NAH001.008 But with an overrunning flood he will make an utter end of the place thereof, and darkness shall pursue his enemies. %%% Naye ne mukoka akulukuta alimalirawo ddala ekifo kyakyo, era abalabe be alibagobera mu kizikiza. 34NAH001.009 What do ye imagine against the LORD? he will make an utter end: affliction shall not rise up the second time. %%% Kye muteesa ku Mukama kiki? alimalirawo ddala; obunaku tebuliyimuka omulundi ogw'okubiri. 34NAH001.010 For while they be folden together as thorns, and while they are drunken as drunkards, they shall be devoured as stubble fully dry. %%% Kubanga newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era nga batobye okwenkana mu kunywa kwabwe, balyokerwa ddala ng'ensambu enkalu. 34NAH001.011 There is one come out of thee, that imagineth evil against the LORD, a wicked counsellor. %%% Mu ggwe muwdde omu alowooza akabi ku Mukama, ateesa ebibi. 34NAH001.012 Thus saith the LORD; Though they be quiet, and likewise many, yet thus shall they be cut down, when he shall pass through. Though I have afflicted thee, I will afflict thee no more. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Newakubadde nga balina amaanyi amakakafu era bangi, era balizikirira, naye alivaawo. Newakubadde nga nakulabisa ennaku, sikyakulabisanga nnaku. 34NAH001.013 For now will I break his yoke from off thee, and will burst thy bonds in sunder. %%% Era kaakano naamenya ekikoligo kye kive ku ggwe, era naakutulakutula ebikusiba. 34NAH001.014 And the LORD hath given a commandment concerning thee, that no more of thy name be sown: out of the house of thy gods will I cut off the graven image and the molten image: I will make thy grave; for thou art vile. %%% Ne Mukama alagidde ku ggwe baleme okweyongera okusiga ku linnya lyo; ndizikiriza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse bive mu nnyumba ya bakatonda bo; ndisima entaana yo; kubanga oli mugwagwa. 34NAH001.015 Behold upon the mountains the feet of him that bringeth good tidings, that publisheth peace! O Judah, keep thy solemn feasts, perform thy vows: for the wicked shall no more pass through thee; he is utterly cut off. %%% Laba, ku nsozi ebigere by'oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Weekuuma embaga zo, ggwe Yuda, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga omubi takyayitanga wakati wo; azikirira ddala. 34NAH002.001 He that dasheth in pieces is come up before thy face: keep the munition, watch the way, make thy loins strong, fortify thy power mightily. %%% Oyo atandaggira ayambuse mu maaso go; kuuma ekigo, tunuulira ekkubo, nyweza ekiwato kyo, beera n'amaanyi agatasingika. 34NAH002.002 For the LORD hath turned away the excellency of Jacob, as the excellency of Israel: for the emptiers have emptied them out, and marred their vine branches. %%% Kubanga Mukama azzaawo ekitiibwa ekingi ekya Yakobo, ng'ekitiibwa ekingi ekya Isiraeri; kubanga abattuluzi babattuludde ne baaya amatabi g'emizabbibu gyabwe. 34NAH002.003 The shield of his mighty men is made red, the valiant men are in scarlet: the chariots shall be with flaming torches in the day of his preparation, and the fir trees shall be terribly shaken. %%% Engazo z'abazira be zisiigibwako gerenge; abantu ab'amaanyi bambadde engoye entwakaavu; ebyuma by'amagaali bimasamasa ku lunaku lw'ateekateeka, era amafumu gagalulwa n'entiisa. 34NAH002.004 The chariots shall rage in the streets, they shall justle one against another in the broad ways: they shall seem like torches, they shall run like the lightnings. %%% Amagaali gatayira mu nguudo mbiro, ganyigana mu nguudo engazi; gafaanana ng'emimuli, gabuukabuuka ng'emyansa. 34NAH002.005 He shall recount his worthies: they shall stumble in their walk; they shall make haste to the wall thereof, and the defence shall be prepared. %%% Ajjukira ab'ekitiibwa ababe; beesittala nga bagenda; banguwa okutuuka ku bbugwe ow'ekigo, ogugabo ne guteekebwateekebwa. 34NAH002.006 The gates of the rivers shall be opened, and the palace shall be dissolved. %%% Enzigi ez'oku migga zigguddwawo, ennyumba ya kabaka ne bagisaanyaawo. 34NAH002.007 And Huzzab shall be led away captive, she shall be brought up, and her maids shall lead her as with the voice of doves, tabering upon their breasts. %%% Kuzzabu n'avumbuka, n'atwalibwa, abazaana be ne bakaaba nga n'eddoboozi ly'amayiba nga bakuba mu bifuba byabwe. 34NAH002.008 But Nineveh is of old like a pool of water: yet they shall flee away. Stand, stand, shall they cry; but none shall look back. %%% Naye Nineeve kibaddewo okuva mu nnaku ez'edda ng'ekidiba ky'amazzi; naye badduka; Muyimirire, muyimirire, bwe bakoowoola; naye tewali atunuulira ennyuma. 34NAH002.009 Take ye the spoil of silver, take the spoil of gold: for there is none end of the store and glory out of all the pleasant furniture. %%% Munyage effeeza, munyage ezaabu; ebiterekebwa tebiriiko we bikoma, omuwendo ogw'ebintu byonna ebyegombebwa. 34NAH002.010 She is empty, and void, and waste: and the heart melteth, and the knees smite together, and much pain is in all loins, and the faces of them all gather blackness. %%% Kiri busa, kiri bwereere, kizise: tewali aguma omwoyo, amaviivi gakubagana, okulumizibwa kuli mu biwato byonna, era abantu bonna batukulatukula mu maaso olw'entiisa. 34NAH002.011 Where is the dwelling of the lions, and the feedingplace of the young lions, where the lion, even the old lion, walked, and the lion's whelp, and none made them afraid? %%% Empuku y'empologoma eri ludda wa, n'eddiiro ly'empologoma ento, empologoma ensajja n'enduusi we zaatambuliranga, omwana gw'empologoma, so tewali azitiisa? 34NAH002.012 The lion did tear in pieces enough for his whelps, and strangled for his lionesses, and filled his holes with prey, and his dens with ravin. %%% Empologoma yataagulataagula eky'okumala abaana baayo, n'etugira empologoma zaayo enduusi, n'ejjuza empuku zaayo omuyiggo n'ebisulo byayo ebitaagulwa. 34NAH002.013 Behold, I am against thee, saith the LORD of hosts, and I will burn her chariots in the smoke, and the sword shall devour thy young lions: and I will cut off thy prey from the earth, and the voice of thy messengers shall no more be heard. %%% Laba, ndi mulabe wo, bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndyokya amagaali gaakyo mu mukka, n'ekitala kirizikiriza empologoma zaakyo ento; era ndiggya ku nsi ky'otaagula, n'eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate. 34NAH003.001 Woe to the bloody city! it is all full of lies and robbery; the prey departeth not; %%% Zikisanze ekibuga eky'omusaayi! kyonna kijjudde eby'obulimba n'eby'amaanyi; ekitaagulwataagulwa tekivaamu. 34NAH003.002 The noise of a whip, and the noise of the rattling of the wheels, and of the pransing horses, and of the jumping chariots. %%% Okuvuuma kw'olukoba n'okuvuuma kwa bannamuziga abayiringita; n'embalaasi nga zinyirira n'amagaali nga gabuukabuuka; 34NAH003.003 The horseman lifteth up both the bright sword and the glittering spear: and there is a multitude of slain, and a great number of carcases; and there is none end of their corpses; they stumble upon their corpses: %%% n'abo abeebagala nga balinnya n'okumasamasa kw'ekitala n'okumyansa kw'amafumu; era abafu bangi n'emirambo entuumo nnene; so n'emirambo tegiriiko we gikoma; beesittala ku mirambo gyabwe. 34NAH003.004 Because of the multitude of the whoredoms of the wellfavoured harlot, the mistress of witchcrafts, that selleth nations through her whoredoms, and families through her witchcrafts. %%% Kubanga okwenda kw'omwenzi omulungi kungi nnyo nnyini, omukulu w'obulogo, atunda amawanga n'eby'obwenzi bye, era enda n'obulogo bwe. 34NAH003.005 Behold, I am against thee, saith the LORD of hosts; and I will discover thy skirts upon thy face, and I will shew the nations thy nakedness, and the kingdoms thy shame. %%% Laba, ndi mulabe wo bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndibikkula ebirenge byo ku maaso go; nange ndirabisa amawanga obwereere bwo, n'obwakabaka ndibulabisa ensonyi zo. 34NAH003.006 And I will cast abominable filth upon thee, and make thee vile, and will set thee as a gazingstock. %%% Era ndikusuulira ebyenyinyalwa, era ndikuggyako ekitiibwa, era ndikussaawo okuba ekyerolerwa. 34NAH003.007 And it shall come to pass, that all they that look upon thee shall flee from thee, and say, Nineveh is \laid waste: who will bemoan her? whence shall I seek comforters for thee? %%% Awo olulituuka bonna abalikutunuulira balikudduka ne boogera nti Nineeve kyonoonese; ani anaakikubira ebiwoobe? ndinoonyeza wa abo abalikukubagiza? 34NAH003.008 Art thou better than populous No, that was situate among the rivers, that had the waters round about it, whose rampart was the sea, and her wall was from the sea? %%% Osinga Nowamoni obulungi, ekyakubibwa awali emigga, ekyalina amazzi amangi enjuyi zonna; era olukomera lwakyo nnyanja: n'ennyanja yabeera bbugwe waakyo? 34NAH003.009 Ethiopia and Egypt were her strength, and it was infinite; Put and Lubim were thy helpers. %%% Obuwesiyopya ne Misiri maanyi gaakyo so tegasingika; aba Puti n'Abalubi be baali ababeezi bo. 34NAH003.010 Yet was she carried away, she went into captivity: her young children also were dashed in pieces at the top of all the streets: and they cast lots for her honourable men, and all her great men were bound in chains. %%% Naye kyatwalibwa, kyagenda mu buddu; n'abaana baakyo abato baatandaggirwa ku masaŋŋanzira g'enguudo zonna n'ab'ekitiibwa baabakubirako akalulu, n'abakulu be bonna baasibibwa mu njegere. 34NAH003.011 Thou also shalt be drunken: thou shalt be hid, thou also shalt seek strength because of the enemy. %%% Era naawe olitamiira, olikwekebwa; era naawe olinoonya ekigo ku lw'abalabe. 34NAH003.012 All thy strong holds shall be like fig trees with the firstripe figs: if they be shaken, they shall even fall into the mouth of the eater. %%% Ebigo byo byonna biriba nga mitiini egibaako ettiini ezisooka okwengera: bwe zikunkumuka, zigwa mu kamwa k'omuli. 34NAH003.013 Behold, thy people in the midst of thee are women: the gates of thy land shall be set wide open unto thine enemies: the fire shall devour thy bars. %%% Laba, abantu bo wakati wo bakazi; enzigi eza wankaaki ez'ensi yo ziggulirwa ddala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo. 34NAH003.014 Draw thee waters for the siege, fortify thy strong holds: go into clay, and tread the morter, make strong the brickkiln. %%% Weesenere amazzi olw'okuzingizibwa, nyweza ebigo byo, linnya ku ttaka, samba ebbumba, nyweza ekyokero ky'amatoffaali. 34NAH003.015 There shall the fire devour thee; the sword shall cut thee off, it shall eat thee up like the cankerworm: make thyself many as the cankerworm, make thyself many as the locusts. %%% Omuliro gulikwokera eyo; ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera; weeyaze nga kalusejjera, weeyaze ng'enzige. 34NAH003.016 Thou hast multiplied thy merchants above the stars of heaven: the cankerworm spoileth, and fleeth away. %%% Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi; kalusejjera koonoona ne kabuuka ne kagenda. 34NAH003.017 Thy crowned are as the locusts, and thy captains as the great grasshoppers, which camp in the hedges in the cold day, but when the sun ariseth they flee away, and their place is not known where they are. %%% Ababo abatikkiddwa engule baali ng'enzige; abagabe bo ng'ebifuko by'amayanzi agabeera mu bisagazi ku lunaku lw'empewo, naye enjuba bw'evaayo zidduka, n'ekifo we zibeera tekimanyibwa. 34NAH003.018 Thy shepherds slumber, O king of Assyria: thy nobles shall dwell in the dust: thy people is scattered upon the mountains, and no man gathereth them. %%% Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli; abakulu bo ab'ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya. 34NAH003.019 There is no healing of thy bruise; thy wound is grievous: all that hear the bruit of thee shall clap the hands over thee: for upon whom hath not thy wickedness passed continually? %%% Tewali kya kukkakkanya bulumi bwo; ekiwundu kyo kinene; bonna abawulira ebigambo byo bakukubira mu ngalo; kubanga muntu ki obubi bwo gwe butatuukako ennaku zonna? 35HAB001.001 The burden which Habakkuk the prophet did see. %%% Omugugu Kaabakuuku nnabbi gwe yalaba. 35HAB001.002 O LORD, how long shall I cry, and thou wilt not hear! even cry out unto thee of violence, and thou wilt not save! %%% Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba, naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira olw'eby'ekyejo so tokkiriza kulokola. 35HAB001.003 Why dost thou shew me iniquity, and cause me to behold grievance? for spoiling and violence are before me: and there are that raise up strife and contention. %%% Onjoleseza ki obutali butuukirivu n'otunuulira obukyamu? kubanga okunyaga n'ekyejo biri mu maaso gange: era waliwo empaka, n'okuyomba kubaawo. 35HAB001.004 Therefore the law is slacked, and judgment doth never go forth: for the wicked doth compass about the righteous; therefore wrong judgment proceedeth. %%% Amateeka kye gavudde gaddirira, so n'omusango tegufulumanga n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu omusango kyeguva gufuluma nga gunyooleddwa. 35HAB001.005 Behold ye among the heathen, and regard, and wonder marvellously: for I will work a work in your days, which ye will not believe, though it be told you. %%% Mulabe mu mawanga, musseeyo omwoyo, mwewuunye nnyo nnyini: kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa. 35HAB001.006 For, lo, I raise up the Chaldeans, that bitter and hasty nation, which shall march through the breadth of the land, to possess the dwellingplaces that are not theirs. %%% Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri okutambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, okulya ennyumba ezitali zaabwe. 35HAB001.007 They are terrible and dreadful: their judgment and their dignity shall proceed of themselves. %%% Ba ntiisa, ba kitiibwa: omusango gwabwe n'obukulu bwabwe biva eri bo bennyini. 35HAB001.008 Their horses also are swifter than the leopards, and are more fierce than the evening wolves: and their horsemen shall spread themselves, and their horsemen shall come from far; they shall fly as the eagle that hasteth to eat. %%% Era embalaasi zaabwe zikira engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro; n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi bagoma: weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguwa okulya. 35HAB001.009 They shall come all for violence: their faces shall sup up as the east wind, and they shall gather the captivity as the sand. %%% Bajja lwa kyejo bonna; bavulumula amaaso gaabwe ng'embuyaga ez'ebuvanjuba; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu. 35HAB001.010 And they shall scoff at the kings, and the princes shall be a scorn unto them: they shall deride every strong hold; for they shall heap dust, and take it. %%% Weewaawo, asekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gy'ali: aduulira buli kigo; kubanga atuuma enfuufu n'akimenya. 35HAB001.011 Then shall his mind change, and he shall pass over, and offend, imputing this his power unto his god. %%% Awo aliyita ng'awulukuka ng'embuyaga, era alisukkirira n'azza omusango: ye amaanyi ge gabeera katonda we. 35HAB001.012 Art thou not from everlasting, O LORD my God, mine Holy One? we shall not die. O LORD, thou hast ordained them for judgment; and, O mighty God, thou hast established them for correction. %%% Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ai Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? tetulifa. Ai Mukama, wamuteekerawo musango; naawe, ai Olwazi, wamunywereza kubuulirira. 35HAB001.013 Thou art of purer eyes than to behold evil, and canst not look on iniquity: wherefore lookest thou upon them that deal treacherously, and holdest thy tongue when the wicked devoureth the man that is more righteous than he? %%% Ggwe alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi bw'aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu; 35HAB001.014 And makest men as the fishes of the sea, as the creeping things, that have no ruler over them? %%% n'ofuula abantu ng'ebyennyanja era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga? 35HAB001.015 They take up all of them with the angle, they catch them in their net, and gather them in their drag: therefore they rejoice and are glad. %%% Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye: kyava asanyuka n'ajaguza. 35HAB001.016 Therefore they sacrifice unto their net, and burn incense unto their drag; because by them their portion is fat, and their meat plenteous. %%% Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye n'eba nnyingi. 35HAB001.017 Shall they therefore empty their net, and not spare continually to slay the nations? %%% Kale kyaliva afuka omuya gwe, n'atalekaayo kutta amawanga olutata? 35HAB002.001 I will stand upon my watch, and set me upon the tower, and will watch to see what he will say unto me, and what I shall answer when I am reproved. %%% Ndiyimirira we nkuumira ne nneeteeka ku kigo, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era bye mba nziramu eby'okwemulugunya kwange. 35HAB002.002 And the LORD answered me, and said, Write the vision, and make it plain upon tables, that he may run that readeth it. %%% Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku bipande, akusoma adduke mbiro. 35HAB002.003 For the vision is yet for an appointed time, but at the end it shall speak, and not lie: though it tarry, wait for it; because it will surely come, it will not tarry. %%% Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo. 35HAB002.004 Behold, his soul which is lifted up is not upright in him: but the just shall live by his faith. %%% Laba, emmeeme ye yeegulumizizza, si ngolokofu mu ye: naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe. 35HAB002.005 Yea also, because he transgresseth by wine, he is a proud man, neither keepeth at home, who enlargeth his desire as hell, and is as death, and cannot be satisfied, but gathereth unto him all nations, and heapeth unto him all people: %%% Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, musajja wa malala, era atatuula waka; agaziya okwegomba kwe ng'amagombe, era ali ng'okufa, so tayinza kukkuta, naye n'akuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, ne yeetuumira ebika byonna. 35HAB002.006 Shall not all these take up a parable against him, and a taunting proverb against him, and say, Woe to him that increaseth that which is not his! how long? and to him that ladeth himself with thick clay! %%% Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti Zimusanze oyo ayaza ebyo ebitali bibye! alituusa wa? era eyeebinika emisingo! 35HAB002.007 Shall they not rise up suddenly that shall bite thee, and awake that shall vex thee, and thou shalt be for booties unto them? %%% Tebaliyimuka nga tomanyiridde abo abalikuluma, tebalizuukuka abalikweraliikiriza, naawe n'oba munyago gye bali? 35HAB002.008 Because thou hast spoiled many nations, all the remnant of the people shall spoil thee; because of men's blood, and for the violence of the land, of the city, and of all that dwell therein. %%% Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakibeeramu. 35HAB002.009 Woe to him that coveteth an evil covetousness to his house, that he may set his nest on high, that he may be delivered from the power of evil! %%% Zimusanze oyo afunira ennyumba ye amagoba amabi, azimbe ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi! 35HAB002.010 Thou hast consulted shame to thy house by cutting off many people, and hast sinned against thy soul. %%% Oteeserezza ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe. 35HAB002.011 For the stone shall cry out of the wall, and the beam out of the timber shall answer it. %%% Kubanga ejjinja liryogerera waggulu nga liyima mu kisenge, n'omuti guliriddamu nga guyima mu misekese. 35HAB002.012 Woe to him that buildeth a town with blood, and stablisheth a city by iniquity! %%% Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, n'anyweza ekibuga n'obutali butuukirivu! 35HAB002.013 Behold, is it not of the LORD of hosts that the people shall labour in the very fire, and the people shall weary themselves for very vanity? %%% Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okweyooyeseza obutaliimu? 35HAB002.014 For the earth shall be filled with the knowledge of the glory of the LORD, as the waters cover the sea. %%% Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja. 35HAB002.015 Woe unto him that giveth his neighbour drink, that puttest thy bottle to him, and makest him drunken also, that thou mayest look on their nakedness! %%% Zimusanze oyo awa munne ebyokunywa, n'oyongerako n'obutwa bwo, n'okutamiiza n'omutamiiza olyoke otunuulire ensonyi zaabwe! 35HAB002.016 Thou art filled with shame for glory: drink thou also, and let thy foreskin be uncovered: the cup of the LORD's right hand shall be turned unto thee, and shameful spewing shall be on thy glory. %%% Ojjudde ensonyi awaabanga ekitiibwa: naawe nywa, obeere ng'atali mukomole: ekikompe eky'omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa eri ggwe, n'ensonyi ez'obuwemu ziriba ku kitiibwa kyo. 35HAB002.017 For the violence of Lebanon shall cover thee, and the spoil of beasts, which made them afraid, because of men's blood, and for the violence of the land, of the city, and of all that dwell therein. %%% Kubanga ekyejo ekyagirirwa Lebanooni kirikubikkako, n'okuzikirira kw'ensolo ezaabatiisanga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakituulamu. 35HAB002.018 What profiteth the graven image that the maker thereof hath graven it; the molten image, and a teacher of lies, that the maker of his work trusteth therein, to make dumb idols? %%% Ekifaananyi ekyole kigasa ki, omukozi waakyo n'okwola n'akyola; ekifaananyi ekisaanuuse n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki, omukozi w'omulimu gwe n'okwesiga n'akyesiga, okukola essanamu ensiru! 35HAB002.019 Woe unto him that saith to the wood, Awake; to the dumb stone, Arise, it shall teach! Behold, it is laid over with gold and silver, and there is no breath at all in the midst of it. %%% Zimusanze oyo agamba omuti nti Zuukuka; agamba ejjinja essiru nti Golokoka! Kino kinaayigiriza? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, so tewali mukka n'akamu kokka wakati mu kyo. 35HAB002.020 But the LORD is in his holy temple: let all the earth keep silence before him. %%% Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zibunire mu maaso ge. 35HAB003.001 A prayer of Habakkuk the prophet upon Shigionoth. %%% Okusaba kwa Kaabakuuku nnabbi, okw'Ekisigiyonosi. 35HAB003.002 O LORD, I have heard thy speech, and was afraid: O LORD, revive thy work in the midst of the years, in the midst of the years make known; in wrath remember mercy. %%% Ai Mukama, mpulidde ebigambo byo, n'entya: Ai Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyise wakati mu myaka; Awali obusungu, jjukira okusaasira. 35HAB003.003 God came from Teman, and the Holy One from mount Paran. Selah. His glory covered the heavens, and the earth was full of his praise. %%% Katonda yajja ng'ava ku Temani, Era Omutukuvu yajja ng'ava ku lusozi Palani (Seera) Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, Ensi n'ejjula ettendo lye. 35HAB003.004 And his brightness was as the light; he had horns coming out of his hand: and there was the hiding of his power. %%% N'okumasamasa kwe kwali ng'omusana; Yalina amayembe nga gava mu mukono gwe: Era omwo mwe mwali okukweka amaanyi ge. 35HAB003.005 Before him went the pestilence, and burning coals went forth at his feet. %%% Kawumpuli yatambula okumukulembera, Obusaale obw'omuliro ne bufuluma awali ebigere bye. 35HAB003.006 He stood, and measured the earth: he beheld, and drove asunder the nations; and the everlasting mountains were scattered, the perpetual hills did bow: his ways are everlasting. %%% Yayimirira n'agera ensi; Yatunula n'agoba amawanga n'agasalamu: Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana, Obusozi obutaggwaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga obw'edda. 35HAB003.007 I saw the tents of Cushan in affliction: and the curtains of the land of Midian did tremble. %%% Nalaba eweema za Kusani nga zirabye ennaku: Amagigi ag'ensi ya Midiyaani ne gakankana. 35HAB003.008 Was the LORD displeased against the rivers? was thine anger against the rivers? was thy wrath against the sea, that thou didst ride upon thine horses and thy chariots of salvation? %%% Mukama yanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku migga, Oba ekiruyi kyo ku nnyanja, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi? 35HAB003.009 Thy bow was made quite naked, according to the oaths of the tribes, even thy word. Selah. Thou didst cleave the earth with rivers. %%% Omutego gwo gwasowolerwa ddala; Ebirayiro bye walayirira ebika byali kigambo kya nkalakkalira. (Seera) Ensi wagyasaamu n'emigga: 35HAB003.010 The mountains saw thee, and they trembled: the overflowing of the water passed by: the deep uttered his voice, and lifted up his hands on high. %%% Ensozi zaakulaba ne zitya; Amataba ag'amazzi ne gayitawo: Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, N'eyimusa emikono gyayo waggulu. 35HAB003.011 The sun and moon stood still in their habitation: at the light of thine arrows they went, and at the shining of thy glittering spear. %%% Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; Olw'okutangaala kw'obusaale bwo nga butambula, Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa. 35HAB003.012 Thou didst march through the land in indignation, thou didst thresh the heathen in anger. %%% Watambula okuyita mu nsi ng'oliko ekiruyi, N'owuula amawanga ng'oliko obusungu. 35HAB003.013 Thou wentest forth for the salvation of thy people, even for salvation with thine anointed; thou woundedst the head out of the house of the wicked, by discovering the foundation unto the neck. Selah. %%% Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta; Wafumita omutwe ogw'omu nnyumba y'omubi, Ng'oyerula omusingi okutuuka ne ku nsingo. (Seera) 35HAB003.014 Thou didst strike through with his staves the head of his villages: they came out as a whirlwind to scatter me: their rejoicing was as to devour the poor secretly. %%% Wafumita n'emiguma gye ye omutwe gw'abalwanyi be: Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaanya: Okusanyuka kwabwe kulya mwavu kyama: 35HAB003.015 Thou didst walk through the sea with thine horses, through the heap of great waters. %%% Walinnya ennyanja n'embalaasi zo, Entuumu ey'amazzi ag'amaanyi. 35HAB003.016 When I heard, my belly trembled; my lips quivered at the voice: rottenness entered into my bones, and I trembled in myself, that I might rest in the day of trouble: when he cometh up unto the people, he will invade them with his troops. %%% Nawulira, olubuto lwange ne lukankana, Emimwa gyange ne gijugumirira eddoboozi eryo; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange: Mpummulire ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, Bwe zirisanga abantu abamutabaala ebibiina. 35HAB003.017 Although the fig tree shall not blossom, neither shall fruit be in the vines; the labour of the olive shall fail, and the fields shall yield no meat; the flock shall be cut off from the fold, and there shall be no herd in the stalls: %%% Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala; Ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, Ennimiro ne zitaleeta mmere yonna; Embuzi nga zimaliddwawo ku kisibo, So nga tewali nte mu biraalo: 35HAB003.018 Yet I will rejoice in the LORD, I will joy in the God of my salvation. %%% Era naye ndisanyukira Mukama, Ndijaguliza Katonda ow'obulokozi bwange. 35HAB003.019 The LORD God is my strength, and he will make my feet like hinds' feet, and he will make me to walk upon mine high places. To the chief singer on my stringed instruments. %%% Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo, Era alintambuliza ku bifo byange ebigulumivu. Ya Mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba. 36ZEP001.001 The word of the LORD which came unto Zephaniah the son of Cushi, the son of Gedaliah, the son of Amariah, the son of Hizkiah, in the days of Josiah the son of Amon, king of Judah. %%% Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, mutabani wa Gedaliya, mutabani wa Amaliya, mutabani wa Kezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda. 36ZEP001.002 I will utterly consume all things from off the land, saith the LORD. %%% Ndizikiririza ddala byonna okuva ku maaso g'ensi, bw'ayogera Mukama. 36ZEP001.003 I will consume man and beast; I will consume the fowls of the heaven, and the fishes of the sea, and the stumbling blocks with the wicked: and I will cut off man from off the land, saith the LORD. %%% Ndimalawo omuntu n'ensolo; ndizikiriza ennyonyi ez'omu bbanga n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'enkonge wamu n'ababi: era ndimalawo abantu okuva ku maaso g'ensi, bw'ayogera Mukama. 36ZEP001.004 I will also stretch out mine hand upon Judah, and upon all the inhabitants of Jerusalem; and I will cut off the remnant of Baal from this place, and the name of the Chemarims with the priests; %%% Era ndigololera ku Yuda omukono gwange ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ndimalawo ekitundu kya Baali ekifisseewo okuva mu kifo kino, n'erinnya lya Bakemali wamu ne bakabona; 36ZEP001.005 And them that worship the host of heaven upon the housetops; and them that worship and that swear by the LORD, and that swear by Malcham; %%% n'abo abasinziza eggye ery'omu ggulu ku nnyumba waggulu; n'abo abasinza, abalayirira Mukama nga balayira Malukamu; 36ZEP001.006 And them that are turned back from the LORD; and those that have not sought the LORD, nor enquired for him. %%% n'abo abazze ennyuma obutagoberera Mukama; n'abo abatanoonyanga Mukama newakubadde okumubuuza. 36ZEP001.007 Hold thy peace at the presence of the Lord GOD: for the day of the LORD is at hand: for the LORD hath prepared a sacrifice, he hath bid his guests. %%% Bunira awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategese ssaddaaka, atukuzizza abagenyi be. 36ZEP001.008 And it shall come to pass in the day of the LORD's sacrifice, that I will punish the princes, and the king's children, and all such as are clothed with strange apparel. %%% Awo olulituuka ku lunaku Mukama kw'aliweerayo ssaddaaka ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka n'abo bonna abambadde ebyambalo ebinnaggwanga. 36ZEP001.009 In the same day also will I punish all those that leap on the threshold, which fill their masters' houses with violence and deceit. %%% Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe ekyejo n'obulimba. 36ZEP001.010 And it shall come to pass in that day, saith the LORD, that there shall be the noise of a cry from the fish gate, and an howling from the second, and a great crashing from the hills. %%% Awo ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, walibaawo eddoboozi ery'okuleekaana eriva ku mulyango ogw'ebyennyanja, n'okuwowoggana okuva mu luuyi olw'okubiri, n'okubwatuuka okunene okuva ku nsozi. 36ZEP001.011 Howl, ye inhabitants of Maktesh, for all the merchant people are cut down; all they that bear silver are cut off. %%% Muwowoggane, mmwe abali mu Makutesi, kubanga abantu bonna aba Kanani zibasanze: n'abo abeebinikanga ffeeza bazikiridde. 36ZEP001.012 And it shall come to pass at that time, that I will search Jerusalem with candles, and punish the men that are settled on their lees: that say in their heart, The LORD will not do good, neither will he do evil. %%% Awo olulituuka mu biro ebyo nditaganjula Yerusaalemi n'ettabaaza; era ndibonereza abasajja abatesengezze ebbonda lyabwe, aboogera mu mutima gwabwe nti Mukama talikola bulungi so talikola bubi. 36ZEP001.013 Therefore their goods shall become a booty, and their houses a desolation: they shall also build houses, but not inhabit them; and they shall plant vineyards, but not drink the wine thereof. %%% N'obugagga bwabwe bulifuuka munyago, n'ennyumba zaabwe matongo; weewaawo, balizimba ennyumba naye tebalizituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa mwenge gwamu. 36ZEP001.014 The great day of the LORD is near, it is near, and hasteth greatly, even the voice of the day of the LORD: the mighty man shall cry there bitterly. %%% Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo, eddoboozi ery'olunaku lwa Mukama; omusajja ow'amaanyi alikaabira eyo ng'aliko obuyinike bungi. 36ZEP001.015 That day is a day of wrath, a day of trouble and distress, a day of wasteness and desolation, a day of darkness and gloominess, a day of clouds and thick darkness, %%% Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuziikirako n'okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte, 36ZEP001.016 A day of the trumpet and alarm against the fenced cities, and against the high towers. %%% lunaku lwa kkondeere n'okulawa, eri ebibuga ebiriko enkomera n'eri ebigo ebigulumivu. 36ZEP001.017 And I will bring distress upon men, that they shall walk like blind men, because they have sinned against the LORD: and their blood shall be poured out as dust, and their flesh as the dung. %%% Era ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bayonoonye Mukama: n'omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'omubiri gwabwe ng'obusa. 36ZEP001.018 Neither their silver nor their gold shall be able to deliver them in the day of the LORD's wrath; but the whole land shall be devoured by the fire of his jealousy: for he shall make even a speedy riddance of all them that dwell in the land. %%% Effeeza yaabwe teriyinza kubawonyeza ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama newakubadde ezaabu yaabwe; naye ensi yonna omuliro ogw'obuggya bwe guligyokya: kubanga alimalawo, weewaawo, alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi. 36ZEP002.001 Gather yourselves together, yea, gather together, O nation not desired; %%% Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane, ai eggwanga eritalina kukwatibwa nsonyi; 36ZEP002.002 Before the decree bring forth, before the day pass as the chaff, before the fierce anger of the LORD come upon you, before the day of the LORD's anger come upon you. %%% etteeka nga terinnaba kuzaala, olunaku nga terunnayita ng'ebisusunku, ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, olunaku olw'obusungu bwa Mukama, nga terunnabatuukako. 36ZEP002.003 Seek ye the LORD, all ye meek of the earth, which have wrought his judgment; seek righteousness, seek meekness: it may be ye shall be hid in the day of the LORD's anger. %%% Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab'omu nsi, abakola emisango gye; munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama. 36ZEP002.004 For Gaza shall be forsaken, and Ashkelon a desolation: they shall drive out Ashdod at the noon day, and Ekron shall be rooted up. %%% Kubanga Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kiriba matongo: Asudodi balikigoba mu ttuntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa. 36ZEP002.005 Woe unto the inhabitants of the sea coast, the nation of the Cherethites! the word of the LORD is against you; O Canaan, the land of the Philistines, I will even destroy thee, that there shall be no inhabitant. %%% Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kiboolekedde, ai Kanani, ensi ey'Abafirisuuti; ndikuzikiriza so tewaliba atuula omwo. 36ZEP002.006 And the sea coast shall be dwellings and cottages for shepherds, and folds for flocks. %%% N'olubalama lw'ennyanja luliba malundiro, nga mulimu ensiisira ez'abasumba n'ebisibo eby'embuzi. 36ZEP002.007 And the coast shall be for the remnant of the house of Judah; they shall feed thereupon: in the houses of Ashkelon shall they lie down in the evening: for the LORD their God shall visit them, and turn away their captivity. %%% Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda ekifisseewo; banaalundiranga eyo: mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi; kubanga Mukama Katonda waabwe alibajjira n'akomyawo obusibe bwabwe. 36ZEP002.008 I have heard the reproach of Moab, and the revilings of the children of Ammon, whereby they have reproached my people, and magnified themselves against their border. %%% Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange ne beegulumiriza ku nsalo yaabwe. 36ZEP002.009 Therefore as I live, saith the LORD of hosts, the God of Israel, Surely Moab shall be as Sodom, and the children of Ammon as Gomorrah, even the breeding of nettles, and saltpits, and a perpetual desolation: the residue of my people shall spoil them, and the remnant of my people shall possess them. %%% Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n'obunnya obw'omunnyo, n'amatongo agatalivaawo: abantu bange abaliba basigaddewo balibanyaga, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekifisseewo kiribasikira. 36ZEP002.010 This shall they have for their pride, because they have reproached and magnified themselves against the people of the LORD of hosts. %%% Olw'amalala gaabwe kyebaliva babeera n'ekyo, kubanga bavumye abantu ba Mukama w'eggye ne babeegulumirizaako. 36ZEP002.011 The LORD will be terrible unto them: for he will famish all the gods of the earth; and men shall worship him, every one from his place, even all the isles of the heathen. %%% Mukama aliba wa ntiisa gye bali: kubanga alikozza bakatonda bonna ab'ensi zonna; kale abantu balimusinza, buli muntu ng'ayima mu kifo kye, ebizinga byonna eby'amawanga. 36ZEP002.012 Ye Ethiopians also, ye shall be slain by my sword. %%% Nammwe Abaesiyopya, mulittibwa n'ekitala kyange. 36ZEP002.013 And he will stretch out his hand against the north, and destroy Assyria; and will make Nineveh a desolation, and dry like a wilderness. %%% Era aligololera omukono gwe ku bukiika obwa kkono n'azikiriza Obwasuli; n'afuula Nineeve okuba amatongo era ekikalu ng'eddungu. 36ZEP002.014 And flocks shall lie down in the midst of her, all the beasts of the nations: both the cormorant and the bittern shall lodge in the upper lintels of it; their voice shall sing in the windows; desolation shall be in the thresholds: for he shall uncover the cedar work. %%% Era ente zinaagalamiranga wakati mu kyo, ensolo zonna ez'amawanga: kimbala era ne nnamunungu banaasulanga ku mitwe gy'empagi zaakyo: eddoboozi lyabwe linaayimbiranga mu madirisa; okuzikirira kunaabanga mu miryango: kubanga ayerudde enjola ez'emivule. 36ZEP002.015 This is the rejoicing city that dwelt carelessly, that said in her heart, I am, and there is none beside me: how is she become a desolation, a place for beasts to lie down in! every one that passeth by her shall hiss, and wag his hand. %%% Kino kye kibuga eky'essanyu ekyegololanga, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti Nze wendi so tewali mulala wabula nze: nga kifuuse matongo, ekifo ensolo we zigalamira! buli muntu akiyitako anaasoozanga n'anyeenya omukono gwe. 36ZEP003.001 Woe to her that is filthy and polluted, to the oppressing city! %%% Zikisanze ekijeemu ekyo era ekyonoonefu, ekibuga ekijooga! 36ZEP003.002 She obeyed not the voice; she received not correction; she trusted not in the LORD; she drew not near to her God. %%% Tekyagondera ddoboozi; tekyakkiriza kubuulirirwa; tekyesiga Mukama; tekyasemberera Katonda waakyo. 36ZEP003.003 Her princes within her are roaring lions; her judges are evening wolves; they gnaw not the bones till the morrow. %%% Abakungu baamu wakati mu kyo mpologoma eziwuluguma; abalamuzi baamu misege gya kiro; tebafissaawo kintu okutuusa enkya. 36ZEP003.004 Her prophets are light and treacherous persons: her priests have polluted the sanctuary, they have done violence to the law. %%% Bannabbi baamu biwowongole, era ba nkwe: bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, bagiridde amateeka ekyejo. 36ZEP003.005 The just LORD is in the midst thereof; he will not do iniquity: every morning doth he bring his judgment to light, he faileth not; but the unjust knoweth no shame. %%% Mukama ali wakati mu kyo mutuukirivu; talikola ebitali bya butuukirivu; buli nkya ayolesa omusango gwe, talekaayo; naye atali mutuukirivu tamanyi kukwatibwa nsonyi. 36ZEP003.006 I have cut off the nations: their towers are desolate; I made their streets waste, that none passeth by: their cities are destroyed, so that there is no man, that there is none inhabitant. %%% Mmazeewo amawanga, amakomera gaabwe galekeddwawo; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitawo: ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu so tewali atuulamu. 36ZEP003.007 I said, Surely thou wilt fear me, thou wilt receive instruction; so their dwelling should not be cut off, howsoever I punished them: but they rose early, and corrupted all their doings. %%% Nayogera nti Mazima onontya, onokkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo: naye ne bagolokokanga mu makya ne boonoona ebikolwa byabwe byonna. 36ZEP003.008 Therefore wait ye upon me, saith the LORD, until the day that I rise up to the prey: for my determination is to gather the nations, that I may assemble the kingdoms, to pour upon them mine indignation, even all my fierce anger: for all the earth shall be devoured with the fire of my jealousy. %%% Kale munnindirire, bw'ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndeete obwakabaka okubafukako okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonna; kubanga ensi zonna omuliro ogw'obuggya bwange gulizirya. 36ZEP003.009 For then will I turn to the people a pure language, that they may all call upon the name of the LORD, to serve him with one consent. %%% Kubanga mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumuweereza n'omwoyo gumu. 36ZEP003.010 From beyond the rivers of Ethiopia my suppliants, even the daughter of my dispersed, shall bring mine offering. %%% Abo abanneegayirira, ye muwala w'abange abasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya. 36ZEP003.011 In that day shalt thou not be ashamed for all thy doings, wherein thou hast transgressed against me: for then I will take away out of the midst of thee them that rejoice in thy pride, and thou shalt no more be haughty because of my holy mountain. %%% Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'amalala, so naawe toliba na kitigi nate ku lusozi lwange olutukuvu. 36ZEP003.012 I will also leave in the midst of thee an afflicted and poor people, and they shall trust in the name of the LORD. %%% Naye ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era balyesiga erinnya lya Mukama. 36ZEP003.013 The remnant of Israel shall not do iniquity, nor speak lies; neither shall a deceitful tongue be found in their mouth: for they shall feed and lie down, and none shall make them afraid. %%% Ekitundu kya Isiraeri ekirifikkawo tebalikola ebitali bya butuukirivu so tebalyogera eby'obulimba so n'olulimi olukuusa terulirabika mu kamwa kaabwe kubanga balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa. 36ZEP003.014 Sing, O daughter of Zion; shout, O Israel; be glad and rejoice with all the heart, O daughter of Jerusalem. %%% Yimba, ai omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ai omuwala wa Yerusaalemi. 36ZEP003.015 The LORD hath taken away thy judgments, he hath cast out thine enemy: the king of Israel, even the LORD, is in the midst of thee: thou shalt not see evil any more. %%% Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya bubi nate lwa kubiri. 36ZEP003.016 In that day it shall be said to Jerusalem, Fear thou not: and to Zion, Let not thine hands be slack. %%% Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti Totya; ai Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira. 36ZEP003.017 The LORD thy God in the midst of thee is mighty; he will save, he will rejoice over thee with joy; he will rest in his love, he will joy over thee with singing. %%% Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow'amaanyi anaalokola: alikusanyukira n'essanyu, aliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira ng'ayimba. 36ZEP003.018 I will gather them that are sorrowful for the solemn assembly, who are of thee, to whom the reproach of it was a burden. %%% Ndikuŋŋaanya abo abanakuwalira okukuŋŋaana okutukuvu, abaali ababo: omugugu ogwali ku kyo kyali kivume gye bali. 36ZEP003.019 Behold, at that time I will undo all that afflict thee: and I will save her that halteth, and gather her that was driven out; and I will get them praise and fame in every land where they have been put to shame. %%% Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya: era ndirokola omukazi awenyera, ne nkuŋŋaanya oyo eyagobebwa; era ndibafuula ettendo n'erinnya abakwatirwa ensonyi mu nsi zonna. 36ZEP003.020 At that time will I bring you again, even in the time that I gather you: for I will make you a name and a praise among all people of the earth, when I turn back your captivity before your eyes, saith the LORD. %%% Mu biro ebyo ndibayingiza, ne mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya: kubanga ndibafuula erinnya n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama. 37HAG001.001 In the second year of Darius the king, in the sixth month, in the first day of the month, came the word of the LORD by Haggai the prophet unto Zerubbabel the son of Shealtiel, governor of Judah, and to Joshua the son of Josedech, the high priest, saying, %%% Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo kabaka, mu mwezi ogw'omukaaga, ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabbi eri Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'eri Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nga kyogera nti 37HAG001.002 Thus speaketh the LORD of hosts, saying, This people say, The time is not come, the time that the LORD's house should be built. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abantu bano boogera nti Kaakano si kye kiseera ffe okujja, ekiseera eky'okuzimbiramu ennyumba ya Mukama. 37HAG001.003 Then came the word of the LORD by Haggai the prophet, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabi nga kyogera nti 37HAG001.004 Is it time for you, O ye, to dwell in your cieled houses, and this house lie waste? %%% Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikkiddwako, ennyumba eno ng'ebeerera awo ng'erekeddwawo? 37HAG001.005 Now therefore thus saith the LORD of hosts; Consider your ways. %%% Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mulowooze amakubo gammwe. 37HAG001.006 Ye have sown much, and bring in little; ye eat, but ye have not enough; ye drink, but ye are not filled with drink; ye clothe you, but there is none warm; and he that earneth wages earneth wages to put it into a bag with holes. %%% Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa; mwambala naye tewali abuguma; n'oyo afuna empeera afuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka. 37HAG001.007 Thus saith the LORD of hosts; Consider your ways. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mulowooze amakubo gammwe. 37HAG001.008 Go up to the mountain, and bring wood, and build the house; and I will take pleasure in it, and I will be glorified, saith the LORD. %%% Mulinnye ku lusozi, muleete emiti, muzimbe ennyumba; nange ndigisanyukira, era ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama. 37HAG001.009 Ye looked for much, and lo, it came to little; and when ye brought it home, I did blow upon it. Why? saith the LORD of hosts. Because of mine house that is waste, and ye run every man unto his own house. %%% Mwasuubira bingi, kale, laba, ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki? bw'ayogera Mukama w'eggye. Ogw'ennyumba yange ebeerera awo ng'erekeddwawo, nammwe muddukira buli muntu eri ennyumba ye. 37HAG001.010 Therefore the heaven over you is stayed from dew, and the earth is stayed from her fruit. %%% Kale ku lwammwe eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n'ettaka liziyizibwa okubala ebibala byalyo. 37HAG001.011 And I called for a drought upon the land, and upon the mountains, and upon the corn, and upon the new wine, and upon the oil, and upon that which the ground bringeth forth, and upon men, and upon cattle, and upon all the labour of the hands. %%% Ne mpita ekyanda okujja ku nsi ne ku nsozi ne ku ŋŋaano ne ku mwenge ne ku mafuta ne ku ebyo ettaka bye libala ne ku bantu ne ku nsolo ne ku mirimu gyonna egy'engalo. 37HAG001.012 Then Zerubbabel the son of Shealtiel, and Joshua the son of Josedech, the high priest, with all the remnant of the people, obeyed the voice of the LORD their God, and the words of Haggai the prophet, as the LORD their God had sent him, and the people did fear before the LORD. %%% Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonna abafisseewo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kaggayi nnabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutuma; abantu ne batya mu maaso ga Mukama. 37HAG001.013 Then spake Haggai the LORD's messenger in the LORD's message unto the people, saying, I am with you, saith the LORD. %%% Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n'agamba abantu ng'ayima mu bubaka bwa Mukama nti Nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama. 37HAG001.014 And the LORD stirred up the spirit of Zerubbabel the son of Shealtiel, governor of Judah, and the spirit of Joshua the son of Josedech, the high priest, and the spirit of all the remnant of the people; and they came and did work in the house of the LORD of hosts, their God, %%% Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'omwoyo gwa Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'omwoyo gw'abantu bonna abaali bafisseewo, ne bajja ne bakola omulimu mu nnyumba ya Mukama w'eggye Katonda waabwe, 37HAG001.015 In the four and twentieth day of the sixth month, in the second year of Darius the king. %%% ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu nnya, mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo kabaka. 37HAG002.001 In the seventh month, in the one and twentieth day of the month, came the word of the LORD by the prophet Haggai, saying, %%% Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu lumu ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabbi nga kyogera nti 37HAG002.002 Speak now to Zerubbabel the son of Shealtiel, governor of Judah, and to Joshua the son of Josedech, the high priest, and to the residue of the people, saying, %%% Gamba nno Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda ne Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'abantu abafisseewo ng'oyogera nti 37HAG002.003 Who is left among you that saw this house in her first glory? and how do ye see it now? is it not in your eyes in comparison of it as nothing? %%% Ani asigadde mu mmwe eyalaba ennyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasooka? era mugiraba mutya kaakano? temugiraba nga teriimu ka buntu mu maaso gammwe? 37HAG002.004 Yet now be strong, O Zerubbabel, saith the LORD; and be strong, O Joshua, son of Josedech, the high priest; and be strong, all ye people of the land, saith the LORD, and work: for I am with you, saith the LORD of hosts: %%% Era naye kaakano beera n'amaanyi, ai Zerubbaberi, bw'ayogera Mukama; era beera n'amaanyi, ai Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n'amaanyi, mmwe mwenna abantu ab'omu nsi, bw'ayogera Mukama, mukole omulimu: kubanga nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama w'eggye, 37HAG002.005 According to the word that I covenanted with you when ye came out of Egypt, so my spirit remaineth among you: fear ye not. %%% ng'ekigambo bwe kiri kye nnalagaana nammwe bwe mwava mu Misiri, omwoyo gwange ne gubeera mu mmwe: temutya. 37HAG002.006 For thus saith the LORD of hosts; Yet once, it is a little while, and I will shake the heavens, and the earth, and the sea, and the dry land; %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n'ensi n'ennyanja n'olukalu; 37HAG002.007 And I will shake all nations, and the desire of all nations shall come: and I will fill this house with glory, saith the LORD of hosts. %%% ndikankanya amawanga gonna, n'ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye: 37HAG002.008 The silver is mine, and the gold is mine, saith the LORD of hosts. %%% Effeeza yange ne zaabu yange, bw'ayogera Mukama w'eggye. 37HAG002.009 The glory of this latter house shall be greater than of the former, saith the LORD of hosts: and in this place will I give peace, saith the LORD of hosts. %%% Ekitiibwa eky'ennyumba eno eky'oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw'ayogera Mukama w'eggye: era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bw'ayogera Mukama w'eggye. 37HAG002.010 In the four and twentieth day of the ninth month, in the second year of Darius, came the word of the LORD by Haggai the prophet, saying, %%% Ku lunaku olw'amakumi abiri mu nnya olw'omwezi olw'omwenda mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabbi nga kyogera nti 37HAG002.011 Thus saith the LORD of hosts; Ask now the priests concerning the law, saying, %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Buuza nno bakabona eby'amateeka ng'oyogera nti 37HAG002.012 If one bear holy flesh in the skirt of his garment, and with his skirt do touch bread, or pottage, or wine, or oil, or any meat, shall it be holy? And the priests answered and said, No. %%% Omuntu bw'asitulira ennyama entukuvu mu kirenge eky'ekyambalo kye, n'akoma ku mmere n'ekirenge kye oba mugoyo oba mwenge oba mafuta oba mmere yonna, kiriba kitukuvu? Bakabona ne baddamu ne boogera nti Nedda. 37HAG002.013 Then said Haggai, If one that is unclean by a dead body touch any of these, shall it be unclean? And the priests answered and said, It shall be unclean. %%% Awo Kaggayi n'alyoka ayogera nti Omuntu atali mulongoofu olw'omulambo bw'aba ng'akomye ku kimu ku ebyo byonna, kiriba ekitali kirongoofu? Bakabona ne baddamu ne boogera nti Kiriba ekitali kirongoofu. 37HAG002.014 Then answered Haggai, and said, So is this people, and so is this nation before me, saith the LORD; and so is every work of their hands; and that which they offer there is unclean. %%% Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu. 37HAG002.015 And now, I pray you, consider from this day and upward, from before a stone was laid upon a stone in the temple of the LORD: %%% Kale nno, mbeegayiridde, mulowooze okuva leero n’okudda ennyuma, ejjinja nga terinnaba kuteekebwa ku jjinja mu yeekaalu ya Mukama: 37HAG002.016 Since those days were, when one came to an heap of twenty measures, there were but ten: when one came to the pressfat for to draw out fifty vessels out of the press, there were but twenty. %%% mu biro ebyo byonna omuntu bwe yajjanga eri entuumu ey'ebigera amakumi abiri waabangawo kkumi jjereere: omuntu bwe yajjanga eri essogolero okusena ebita amakumi ataano, nga mulimu amakumi abiri meereere. 37HAG002.017 I smote you with blasting and with mildew and with hail in all the labours of your hands; yet ye turned not to me, saith the LORD. %%% Nabakuba n'okugengewala n'obukuku n'omuzira mu mulimu gwonna ogw'emikono gyammwe; era naye temwankyukira, bw'ayogera Mukama. 37HAG002.018 Consider now from this day and upward, from the four and twentieth day of the ninth month, even from the day that the foundation of the LORD's temple was laid, consider it. %%% Mulowooze, mbeegayiridde, okuva leero n'okudda ennyuma, okuva ku lunaku olw'amakumi abiri mu nnya olw'omwezi ogw'omwenda, okuva ku lunaku lwe baasimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, mukirowooze. 37HAG002.019 Is the seed yet in the barn? yea, as yet the vine, and the fig tree, and the pomegranate, and the olive tree, hath not brought forth: from this day will I bless you. %%% Ensigo zikyali mu ggwanika? weewaawo, omuzabbibu n'omutiini n'omukomamawanga n'omuzeyituuni teginnabala; okuva ku lunaku lwa leero ndibawa omukisa. 37HAG002.020 And again the word of the LORD came unto Haggai in the four and twentieth day of the month, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogw'okubiri ku lunaku olw'amakumi abiri mu nnya olw'omwezi nga kyogera nti 37HAG002.021 Speak to Zerubbabel, governor of Judah, saying, I will shake the heavens and the earth; %%% Yogera ne Zerubbaberi owessaza lya Yuda ng'oyogera nti Ndikankanya eggulu n'ensi; 37HAG002.022 And I will overthrow the throne of kingdoms, and I will destroy the strength of the kingdoms of the heathen; and I will overthrow the chariots, and those that ride in them; and the horses and their riders shall come down, every one by the sword of his brother. %%% era ndisuula entebe ey'obwakabaka bungi, era ndizikiriza amaanyi ag'obwakabaka obw'amawanga; era ndisuula amagaali n'abo abagatambuliramu; n'embalaasi n'abo abazeebagala balikkakkanyizibwa buli muntu n'ekitala kya muganda we. 37HAG002.023 In that day, saith the LORD of hosts, will I take thee, O Zerubbabel, my servant, the son of Shealtiel, saith the LORD, and will make thee as a signet: for I have chosen thee, saith the LORD of hosts. %%% Ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndikutwala ggwe, ai Zerubbaberi omuddu wange, mutabani wa Seyalutyeri, bw'ayogera Mukama, ne nkufuula ng'akabonero; kubanga nkulonze, bw'ayogera Mukama w'eggye. 38ZEC001.001 In the eighth month, in the second year of Darius, came the word of the LORD unto Zechariah, the son of Berechiah, the son of Iddo the prophet, saying, %%% Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti 38ZEC001.002 The LORD hath been sore displeased with your fathers. %%% Mukama asunguwalidde nnyo bajjajjammwe. 38ZEC001.003 Therefore say thou unto them, Thus saith the LORD of hosts; Turn ye unto me, saith the LORD of hosts, and I will turn unto you, saith the LORD of hosts. %%% Kyova obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama. 38ZEC001.004 Be ye not as your fathers, unto whom the former prophets have cried, saying, Thus saith the LORD of hosts; Turn ye now from your evil ways, and from your evil doings: but they did not hear, nor hearken unto me, saith the LORD. %%% Muleme okuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baagambiranga waggulu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi; so tebaawulira so tebampuliriza, bw'ayogera Mukama. 38ZEC001.005 Your fathers, where are they? and the prophets, do they live for ever? %%% Bajjajjammwe bali ludda wa? ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna? 38ZEC001.006 But my words and my statutes, which I commanded my servants the prophets, did they not take hold of your fathers? and they returned and said, Like as the LORD of hosts thought to do unto us, according to our ways, and according to our doings, so hath he dealt with us. %%% Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola. 38ZEC001.007 Upon the four and twentieth day of the eleventh month, which is the month Sebat, in the second year of Darius, came the word of the LORD unto Zechariah, the son of Berechiah, the son of Iddo the prophet, saying, %%% Olunaku olw'amakumi abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti 38ZEC001.008 I saw by night, and behold a man riding upon a red horse, and he stood among the myrtle trees that were in the bottom; and behind him were there red horses, speckled, and white. %%% Natunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'ennyuma we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru. 38ZEC001.009 Then said I, O my lord, what are these? And the angel that talked with me said unto me, I will shew thee what these be. %%% Awo ne njogera nti Ai mukama wange, ebyo biki? Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Naakwolesa ebyo bwe biri. 38ZEC001.010 And the man that stood among the myrtle trees answered and said, These are they whom the LORD hath sent to walk to and fro through the earth. %%% Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi. 38ZEC001.011 And they answered the angel of the LORD that stood among the myrtle trees, and said, We have walked to and fro through the earth, and, behold, all the earth sitteth still, and is at rest. %%% Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde. 38ZEC001.012 Then the angel of the LORD answered and said, O LORD of hosts, how long wilt thou not have mercy on Jerusalem and on the cities of Judah, against which thou hast had indignation these threescore and ten years? %%% Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti Ai Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu? 38ZEC001.013 And the LORD answered the angel that talked with me with good words and comfortable words. %%% Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu. 38ZEC001.014 So the angel that communed with me said unto me, Cry thou, saying, Thus saith the LORD of hosts; I am jealous for Jerusalem and for Zion with a great jealousy. %%% Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Yogerera waggulu ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi. 38ZEC001.015 And I am very sore displeased with the heathen that are at ease: for I was but a little displeased, and they helped forward the affliction. %%% N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo. 38ZEC001.016 Therefore thus saith the LORD; I am returned to Jerusalem with mercies: my house shall be built in it, saith the LORD of hosts, and a line shall be stretched forth upon Jerusalem. %%% Mukama kyava ayogera bw'ati nti Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi. 38ZEC001.017 Cry yet, saying, Thus saith the LORD of hosts; My cities through prosperity shall yet be spread abroad; and the LORD shall yet comfort Zion, and shall yet choose Jerusalem. %%% Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi. 38ZEC001.018 Then lifted I up mine eyes, and saw, and behold four horns. %%% Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana. 38ZEC001.019 And I said unto the angel that talked with me, What be these? And he answered me, These are the horns which have scattered Judah, Israel, and Jerusalem. %%% Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ago maki? N'anziramu nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi. 38ZEC001.020 And the LORD shewed me four carpenters. %%% Mukama n'anjolesa abaweesi bana. 38ZEC001.021 Then said I, What come these to do? And he spake, saying, These are the horns which have scattered Judah, so that no man did lift up his head: but these are come to fray them, to cast out the horns of the Gentiles, which lifted up their horn over the land of Judah to scatter it. %%% Ne njogera nti Abo bajja kukola ki? N'ayogera nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya. 38ZEC002.001 I lifted up mine eyes again, and looked, and behold a man with a measuring line in his hand. %%% Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze. 38ZEC002.002 Then said I, Whither goest thou? And he said unto me, To measure Jerusalem, to see what is the breadth thereof, and what is the length thereof. %%% Ne njogera nti Ogenda wa ggwe? N'aŋŋamba nti Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli. 38ZEC002.003 And, behold, the angel that talked with me went forth, and another angel went out to meet him, %%% Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana 38ZEC002.004 And said unto him, Run, speak to this young man, saying, Jerusalem shall be inhabited as towns without walls for the multitude of men and cattle therein: %%% n'amugamba nti Ddukanako; mugambe omuvubuka oyo nti Yerusaalemi kiribaamu abantu balifikka mu bbugwe kubanga abantu bangi n'eby'omu bisibo bingi wakati mu kyo. 38ZEC002.005 For I, saith the LORD, will be unto her a wall of fire round about, and will be the glory in the midst of her. %%% Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama. 38ZEC002.006 Ho, ho, come forth, and flee from the land of the north, saith the LORD: for I have spread you abroad as the four winds of the heaven, saith the LORD. %%% Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiika obwa kkbno, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama. 38ZEC002.007 Deliver thyself, O Zion, that dwellest with the daughter of Babylon. %%% Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babulooni. 38ZEC002.008 For thus saith the LORD of hosts; After the glory hath he sent me unto the nations which spoiled you: for he that toucheth you toucheth the apple of his eye. %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunyi y'eriiso lye. 38ZEC002.009 For, behold, I will shake mine hand upon them, and they shall be a spoil to their servants: and ye shall know that the LORD of hosts hath sent me. %%% Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma. 38ZEC002.010 Sing and rejoice, O daughter of Zion: for, lo, I come, and I will dwell in the midst of thee, saith the LORD. %%% Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange naabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama. 38ZEC002.011 And many nations shall be joined to the LORD in that day, and shall be my people: and I will dwell in the midst of thee, and thou shalt know that the LORD of hosts hath sent me unto thee. %%% Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange: nange naabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli. 38ZEC002.012 And the LORD shall inherit Judah his portion in the holy land, and shall choose Jerusalem again. %%% Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi. 38ZEC002.013 Be silent, O all flesh, before the LORD: for he is raised up out of his holy habitation. %%% Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera. 38ZEC003.001 And he shewed me Joshua the high priest standing before the angel of the LORD, and Satan standing at his right hand to resist him. %%% N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we. 38ZEC003.002 And the LORD said unto Satan, The LORD rebuke thee, O Satan; even the LORD that hath chosen Jerusalem rebuke thee: is not this a brand plucked out of the fire? %%% Mukama n'agamba Setaani nti Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro? 38ZEC003.003 Now Joshua was clothed with filthy garments, and stood before the angel. %%% Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika. 38ZEC003.004 And he answered and spake unto those that stood before him, saying, Take away the filthy garments from him. And unto him he said, Behold, I have caused thine iniquity to pass from thee, and I will clothe thee with change of raiment. %%% N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti Mumwambuleko engoye ez'ekko. N'agamba Yosuwa nti Laba, nkuyisizzaako obubi bwo; nange naakwambaza ebyambalo ebitenkanika. 38ZEC003.005 And I said, Let them set a fair mitre upon his head. So they set a fair mitre upon his head, and clothed him with garments. And the angel of the LORD stood by. %%% Ne njogera nti Bamutikkire ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamutikkira ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye malayika wa Mukama n'ayimirira awo. 38ZEC003.006 And the angel of the LORD protested unto Joshua, saying, %%% Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti 38ZEC003.007 Thus saith the LORD of hosts; If thou wilt walk in my ways, and if thou wilt keep my charge, then thou shalt also judge my house, and shalt also keep my courts, and I will give thee places to walk among these that stand by. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo eky'okusembereramu mu banno abayimiridde. 38ZEC003.008 Hear now, O Joshua the high priest, thou, and thy fellows that sit before thee: for they are men wondered at: for, behold, I will bring forth my servant the BRANCH. %%% Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange Ettabi. 38ZEC003.009 For behold the stone that I have laid before Joshua; upon one stone shall be seven eyes: behold, I will engrave the graving thereof, saith the LORD of hosts, and I will remove the iniquity of that land in one day. %%% Kubanga laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu. 38ZEC003.010 In that day, saith the LORD of hosts, shall ye call every man his neighbour under the vine and under the fig tree. %%% Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini. 38ZEC004.001 And the angel that talked with me came again, and waked me, as a man that is wakened out of his sleep, %%% Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa ng'omuntu bw'azuukusibwa mu tulo twe. 38ZEC004.002 And said unto me, What seest thou? And I said, I have looked, and behold a candlestick all of gold, with a bowl upon the top of it, and his seven lamps thereon, and seven pipes to the seven lamps, which are upon the top thereof: %%% N'aŋŋamba nti Olabye ki Ne njogera nti Ntunudde, era, laba, ekikondo eky'ettabaaza ekya zaabu kyonna n'ekibya kyakyo nga kiri waggulu ku kyo n'ettabaaza zaakyo omusanvu; ettabaza eziri waggulu waakyo, buli ttabaaza ng'eriko emimiro musanvu: 38ZEC004.003 And two olive trees by it, one upon the right side of the bowl, and the other upon the left side thereof. %%% n'emizeyituui ebiri ku mabbali eruuyi n'eruuyi ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw'ekibya, ogumu ku mukono gwakyo ogwa kkono. 38ZEC004.004 So I answered and spake to the angel that talked with me, saying, What are these, my lord? %%% Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange ne njogera nti Ebyo biki mukama wange? 38ZEC004.005 Then the angel that talked with me answered and said unto me, Knowest thou not what these be? And I said, No, my lord. %%% Malayika eyali ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti Tomanyi ebyo bwe biri? Ne njogera nti Nedda, mukama wange. 38ZEC004.006 Then he answered and spake unto me, saying, This is the word of the LORD unto Zerubbabel, saying, Not by might, nor by power, but by my spirit, saith the LORD of hosts. %%% N'addamu n'aŋŋamba nti Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi nga kyogera nti Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye. 38ZEC004.007 Who art thou, O great mountain? before Zerubbabel thou shalt become a plain: and he shall bring forth the headstone thereof with shoutings, crying, Grace, grace unto it. %%% Olusozi olunene ggwe, weeyita ki? mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa. 38ZEC004.008 Moreover the word of the LORD came unto me, saying, %%% Nate ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti 38ZEC004.009 The hands of Zerubbabel have laid the foundation of this house; his hands shall also finish it; and thou shalt know that the LORD of hosts hath sent me unto you. %%% Emikono gya Zerubbaberi girasizza ennyumba eyo; era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. 38ZEC004.010 For who hath despised the day of small things? for they shall rejoice, and shall see the plummet in the hand of Zerubbabel with those seven; they are the eyes of the LORD, which run to and fro through the whole earth. %%% Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; gaddukanaddukana mu nsi zonna. 38ZEC004.011 Then answered I, and said unto him, What are these two olive trees upon the right side of the candlestick and upon the left side thereof? %%% Ne nziramu ne mmugamba nti Emizeyituuni gino ebiri kye ki ku mukono ogwa ddyo ogw'ekikondo eky'ettabaaza ne ku mukono gwakyo ogwa kkono? 38ZEC004.012 And I answered again, and said unto him, What be these two olive branches which through the two golden pipes empty the golden oil out of themselves? %%% Ne nziramu omulundi ogw'okubiri ne mmugamba nti Amatabi gano abiri maki ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu ageemalamu gokka amafuta aga zaabu? 38ZEC004.013 And he answered me and said, Knowest thou not what these be? And I said, No, my lord. %%% N'anziramu n'ayogera nti Tomanyi ago bwe gali? Ne njogera nti Nedda, mukama wange. 38ZEC004.014 Then said he, These are the two anointed ones, that stand by the LORD of the whole earth. %%% Awo n'ayogera nti Ago be baana babiri ab'amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna. 38ZEC005.001 Then I turned, and lifted up mine eyes, and looked, and behold a flying roll. %%% Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka. 38ZEC005.002 And he said unto me, What seest thou? And I answered, I see a flying roll; the length thereof is twenty cubits, and the breadth thereof ten cubits. %%% N'aŋŋamba nti Olabye ki ggwe? Ne nziramu nti Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka; obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi. 38ZEC005.003 Then said he unto me, This is the curse that goeth forth over the face of the whole earth: for every one that stealeth shall be cut off as on this side according to it; and every one that sweareth shall be cut off as on that side according to it. %%% N'aŋŋamba nti Ekyo kye kikolimo ekifuluma okubunya ensi yonna: kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aligobwamu ku luuyi lwayo olumu; era ng'ekyo bwe kiri, buli alayira aligobwamu ku luuyi lwayo olulala. 38ZEC005.004 I will bring it forth, saith the LORD of hosts, and it shall enter into the house of the thief, and into the house of him that sweareth falsely by my name: and it shall remain in the midst of his house, and shall consume it with the timber thereof and the stones thereof. %%% Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira erinnya lyange obulimba; era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo. 38ZEC005.005 Then the angel that talked with me went forth, and said unto me, Lift up now thine eyes, and see what is this that goeth forth. %%% Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti Kale yimusa amaaso go, olabe kino ekifuluma bwe kiri. 38ZEC005.006 And I said, What is it? And he said, This is an ephah that goeth forth. He said moreover, This is their resemblance through all the earth. %%% Ne njogera nti Ekyo kiki? N'ayogera nti Ekyo ye efa efuluma. Era n'ayogera nti Amaaso gaabwe bwe gali bwe gatyo ku nsi yonna; 38ZEC005.007 And, behold, there was lifted up a talent of lead: and this is a woman that sitteth in the midst of the ephah. %%% (era, laba, ettalanta ey'essasi yasitulibwa;) n'oyo ye mukazi ng'atuula munda wa efa. 38ZEC005.008 And he said, This is wickedness. And he cast it into the midst of the ephah; and he cast the weight of lead upon the mouth thereof. %%% N'ayogera nti Ono bwe Bubi; n'amusuula wansi munda mu efa: n'ateeka omusinga gw'essasi ku kamwa kaayo. 38ZEC005.009 Then lifted I up mine eyes, and looked, and, behold, there came out two women, and the wind was in their wings; for they had wings like the wings of a stork: and they lifted up the ephah between the earth and the heaven. %%% Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula efa mu bbanga ly'ensi n'eggulu. 38ZEC005.010 Then said I to the angel that talked with me, Whither do these bear the ephah? %%% Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Abo efa bagitwala wa? 38ZEC005.011 And he said unto me, To build it an house in the land of Shinar: and it shall be established, and set there upon her own base. %%% N'aŋŋamba nti Okumuzimbira ennyumba mu nsi ya Sinaali; nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye. 38ZEC006.001 And I turned, and lifted up mine eyes, and looked, and, behold, there came four chariots out from between two mountains; and the mountains were mountains of brass. %%% Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri; n'ensozi nsozi za bikomo. 38ZEC006.002 In the first chariot were red horses; and in the second chariot black horses; %%% Ku ggaali ery'olubereberye kwaliko embalaasi za lukunyu; ne ku ggaali ery'okubiri kwaliko embalaasi enzirugavu; 38ZEC006.003 And in the third chariot white horses; and in the fourth chariot grisled and bay horses. %%% ne ku ggaali ery'okusatu kwaliko embalaasi enjeru; ne ku ggaali ery'okuna kwaliko embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru. 38ZEC006.004 Then I answered and said unto the angel that talked with me, What are these, my lord? %%% Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ebyo biki, mukama wange? 38ZEC006.005 And the angel answered and said unto me, These are the four spirits of the heavens, which go forth from standing before the LORD of all the earth. %%% Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu eziva okuyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi zonna. 38ZEC006.006 The black horses which are therein go forth into the north country; and the white go forth after them; and the grisled go forth toward the south country. %%% Liri eririko embalaasi enzirugavu livuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; n'enjeru zaavaayo ennyuma waazo; n'ezitobeseemu obwoya obweru zavaayo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo. 38ZEC006.007 And the bay went forth, and sought to go that they might walk to and fro through the earth: and he said, Get you hence, walk to and fro through the earth. So they walked to and fro through the earth. %%% N'eza kikuusikuusi zaavaayo nga zaagala okugenda zitambuletambule mu nsi; n'ayogera nti Muveeyo, mutambuletambule mu nsi. Awo ne zitambulatambula mu nsi. 38ZEC006.008 Then cried he upon me, and spake unto me, saying, Behold, these that go toward the north country have quieted my spirit in the north country. %%% Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono banzikakkanyirizza omwoyo mu nsi ey'obukiika obwa kkono. 38ZEC006.009 And the word of the LORD came unto me, saying, %%% Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti 38ZEC006.010 Take of them of the captivity, even of Heldai, of Tobijah, and of Jedaiah, which are come from Babylon, and come thou the same day, and go into the house of Josiah the son of Zephaniah; %%% Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babulooni; 38ZEC006.011 Then take silver and gold, and make crowns, and set them upon the head of Joshua the son of Josedech, the high priest; %%% era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu; 38ZEC006.012 And speak unto him, saying, Thus speaketh the LORD of hosts, saying, Behold the man whose name is The BRANCH; and he shall grow up out of his place, and he shall build the temple of the LORD: %%% omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama: 38ZEC006.013 Even he shall build the temple of the LORD; and he shall bear the glory, and shall sit and rule upon his throne; and he shall be a priest upon his throne: and the counsel of peace shall be between them both. %%% oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi. 38ZEC006.014 And the crowns shall be to Helem, and to Tobijah, and to Jedaiah, and to Hen the son of Zephaniah, for a memorial in the temple of the LORD. %%% N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu yeekaalu ya Mukama. 38ZEC006.015 And they that are far off shall come and build in the temple of the LORD, and ye shall know that the LORD of hosts hath sent me unto you. And this shall come to pass, if ye will diligently obey the voice of the LORD your God. %%% Era abaali ewala balijja balizimba mu yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe. 38ZEC007.001 And it came to pass in the fourth year of king Darius, that the word of the LORD came unto Zechariah in the fourth day of the ninth month, even in Chisleu; %%% Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya ku lunaku olw'okuna olw'omwezi ogw'omwenda, mu Kisuleevu. 38ZEC007.002 When they had sent unto the house of God Sherezer and Regemmelech, and their men, to pray before the LORD, %%% Awo aba Beseri baali batumye Salezeeri ne Legemumereki n'abantu baabwe kwegayirira ekisa kya Mukama, 38ZEC007.003 And to speak unto the priests which were in the house of the LORD of hosts, and to the prophets, saying, Should I weep in the fifth month, separating myself, as I have done these so many years? %%% n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti Nandikaabidde amaziga mu mwezi ogw'okutaano nga neeyawudde nga bwe nnakola mu myaka gino egyenkana wano? 38ZEC007.004 Then came the word of the LORD of hosts unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti 38ZEC007.005 Speak unto all the people of the land, and to the priests, saying, When ye fasted and mourned in the fifth and seventh month, even those seventy years, did ye at all fast unto me, even to me? %%% Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu, nze mwansiibira nze n'akatono? 38ZEC007.006 And when ye did eat, and when ye did drink, did not ye eat for yourselves, and drink for yourselves? %%% Era bwe mulya ne bwe munywa, temweriira mwekka, temwenywera mwekka? 38ZEC007.007 Should ye not hear the words which the LORD hath cried by the former prophets, when Jerusalem was inhabited and in prosperity, and the cities thereof round about her, when men inhabited the south and the plain? %%% Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiika obwa ddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu? 38ZEC007.008 And the word of the LORD came unto Zechariah, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, nga kyogera nti 38ZEC007.009 Thus speaketh the LORD of hosts, saying, Execute true judgment, and shew mercy and compassions every man to his brother: %%% Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti Musalenga emisango egy'ensonga, era mukolenga buli muntu muganda we ekisa n'okusaasira; 38ZEC007.010 And oppress not the widow, nor the fatherless, the stranger, nor the poor; and let none of you imagine evil against his brother in your heart. %%% era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era muleme okulowoozanga obubi omuntu yenna eri munne mu mutima gwammwe. 38ZEC007.011 But they refused to hearken, and pulled away the shoulder, and stopped their ears, that they should not hear. %%% Naye ne bagaana okuwulira ne baggyawo ekibegabega ne basiba amatu gaabwe baleme okuwulira. 38ZEC007.012 Yea, they made their hearts as an adamant stone, lest they should hear the law, and the words which the LORD of hosts hath sent in his spirit by the former prophets: therefore came a great wrath from the LORD of hosts. %%% Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa banaabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye. 38ZEC007.013 Therefore it is come to pass, that as he cried, and they would not hear; so they cried, and I would not hear, saith the LORD of hosts: %%% Awo olwatuuka bwe yayogerera waggulu, nabo ne bagaana okuwulira; bwe kityo balikaaba, nange ndigaana okuwulira, bwe yayogera Mukama w'eggye; 38ZEC007.014 But I scattered them with a whirlwind among all the nations whom they knew not. Thus the land was desolate after them, that no man passed through nor returned: for they laid the pleasant land desolate. %%% naye ndibasaasaanyiza n'embuyaga ez'akazimu wakati w'amawanga ge batamanyanga. Awo ensi n'eyonooneka ennyuma waabwe, omuntu yenna alemenga okuyitamu wadde okuddamu; kubanga baagifuula amatongo ensi eyeegombebwa. 38ZEC008.001 Again the word of the LORD of hosts came to me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti 38ZEC008.002 Thus saith the LORD of hosts; I was jealous for Zion with great jealousy, and I was jealous for her with great fury. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi: nkikwatirwa ebuggya n'ekiruyi ekingi. 38ZEC008.003 Thus saith the LORD; I am returned unto Zion, and will dwell in the midst of Jerusalem: and Jerusalem shall be called a city of truth; and the mountain of the LORD of hosts the holy mountain. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nkiddiddemu Sayuuni, naabeeranga wakati mu Yerusaalemi: era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu. 38ZEC008.004 Thus saith the LORD of hosts; There shall yet old men and old women dwell in the streets of Jerusalem, and every man with his staff in his hand for very age. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abakadde, abasajja n'abakazi, balituula ate mu nguudo za Yerusaalemi, buli muntu ng'akutte omuggo mu mukono gwe kubanga akaddiye nnyo. 38ZEC008.005 And the streets of the city shall be full of boys and girls playing in the streets thereof. %%% N'enguudo ez'ekibuga zirijjula abalenzi n'abawala nga bazannyira mu nguudo zaakyo. 38ZEC008.006 Thus saith the LORD of hosts; If it be marvellous in the eyes of the remnant of this people in these days, should it also be marvellous in mine eyes? saith the LORD of hosts. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe kiriba ekitalo mu maaso g'ekitundu ky'abantu abo ekirisigalawo mu nnaku ziri, kyandibadde kya kitalo ne mu maaso gange? bw'ayogera Mukama w'eggye. 38ZEC008.007 Thus saith the LORD of hosts; Behold, I will save my people from the east country, and from the west country; %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndirokola abantu bange okuva mu nsi ey'ebuvanjuba n'okuva mu nsi ey'ebugwanjuba: 38ZEC008.008 And I will bring them, and they shall dwell in the midst of Jerusalem: and they shall be my people, and I will be their God, in truth and in righteousness. %%% ndibaggyayo, nabo banaabeeranga wakati mu Yerusaalemi; nabo banaabanga bantu bange, nange naabeeranga Katonda waabwe mu mazima ne mu butuukirivu. 38ZEC008.009 Thus saith the LORD of hosts; Let your hands be strong, ye that hear in these days these words by the mouth of the prophets, which were in the day that the foundation of the house of the LORD of hosts was laid, that the temple might be built. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku lwe baalasa ennyumba ya Mukama w'eggye, ye yeekaalu, ezimbibwe. 38ZEC008.010 For before these days there was no hire for man, nor any hire for beast; neither was there any peace to him that went out or came in because of the affliction: for I set all men every one against his neighbour. %%% Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne. 38ZEC008.011 But now I will not be unto the residue of this people as in the former days, saith the LORD of hosts. %%% Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye. 38ZEC008.012 For the seed shall be prosperous; the vine shall give her fruit, and the ground shall give her increase, and the heavens shall give their dew; and I will cause the remnant of this people to possess all these things. %%% Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna. 38ZEC008.013 And it shall come to pass, that as ye were a curse among the heathen, O house of Judah, and house of Israel; so will I save you, and ye shall be a blessing: fear not, but let your hands be strong. %%% Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi. 38ZEC008.014 For thus saith the LORD of hosts; As I thought to punish you, when your fathers provoked me to wrath, saith the LORD of hosts, and I repented not: %%% Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe baansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa; 38ZEC008.015 So again have I thought in these days to do well unto Jerusalem and to the house of Judah: fear ye not. %%% Bwe ntyo ate ndowoozezza mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n'ennyumba ya Yuda; temutya. 38ZEC008.016 These are the things that ye shall do; Speak ye every man the truth to his neighbour; execute the judgment of truth and peace in your gates: %%% Ebigambo bye munaakolanga bye bino; mubuuliraganenga eby'amazima buli muntu ne munne; musalenga emisango egy'ensonga n'emisango egy'emirembe mu miryango gyammwe: 38ZEC008.017 And let none of you imagine evil in your hearts against his neighbour; and love no false oath: for all these are things that I hate, saith the LORD. %%% so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama. 38ZEC008.018 And the word of the LORD of hosts came unto me, saying, %%% Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti 38ZEC008.019 Thus saith the LORD of hosts; The fast of the fourth month, and the fast of the fifth, and the fast of the seventh, and the fast of the tenth, shall be to the house of Judah joy and gladness, and cheerful feasts; therefore love the truth and peace. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Okusiiba okw'omu mwezi ogw'okuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda okusanyuka n'okujaguza n'embaga ennungi; kale mwagalenga amazima n'emirembe. 38ZEC008.020 Thus saith the LORD of hosts; It shall yet come to pass, that there shall come people, and the inhabitants of many cities: %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo amawanga ne gajja n'abo ababeera mu bibuga ebingi; 38ZEC008.021 And the inhabitants of one city shall go to another, saying, Let us go speedily to pray before the LORD, and to seek the LORD of hosts: I will go also. %%% era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda. 38ZEC008.022 Yea, many people and strong nations shall come to seek the LORD of hosts in Jerusalem, and to pray before the LORD. %%% Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama. 38ZEC008.023 Thus saith the LORD of hosts; In those days it shall come to pass, that ten men shall take hold out of all languages of the nations, even shall take hold of the skirt of him that is a Jew, saying, We will go with you: for we have heard that God is with you. %%% Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe. 38ZEC009.001 The burden of the word of the LORD in the land of Hadrach, and Damascus shall be the rest thereof: when the eyes of man, as of all the tribes of Israel, shall be toward the LORD. %%% Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummula kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri: eri Mukama; 38ZEC009.002 And Hamath also shall border thereby; Tyrus, and Zidon, though it be very wise. %%% era ne Kamasi ekiriraanye nakyo: Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo. Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu ennungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo. 38ZEC009.003 And Tyrus did build herself a strong hold, and heaped up silver as the dust, and fine gold as the mire of the streets. %%% Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu nnungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo. 38ZEC009.004 Behold, the LORD will cast her out, and he will smite her power in the sea; and she shall be devoured with fire. %%% Laba, Mukama alikigoba mu byakyo, alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja; era kiryokebwa omuliro. 38ZEC009.005 Ashkelon shall see it, and fear; Gaza also shall see it, and be very sorrowful, and Ekron; for her expectation shall be ashamed; and the king shall perish from Gaza, and Ashkelon shall not be inhabited. %%% Asukulooni kiriraba kiritya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula nu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu. 38ZEC009.006 And a bastard shall dwell in Ashdod, and I will cut off the pride of the Philistines. %%% Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era Abafirisuuti ndibaloga amalala. 38ZEC009.007 And I will take away his blood out of his mouth, and his abominations from between his teeth: but he that remaineth, even he, shall be for our God, and he shall be as a governor in Judah, and Ekron as a Jebusite. %%% Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi. 38ZEC009.008 And I will encamp about mine house because of the army, because of him that passeth by, and because of him that returneth: and no oppressor shall pass through them any more: for now have I seen with mine eyes. %%% Nange naasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange. 38ZEC009.009 Rejoice greatly, O daughter of Zion; shout, O daughter of Jerusalem: behold, thy King cometh unto thee: he is just, and having salvation; lowly, and riding upon an ass, and upon a colt the foal of an ass. %%% Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n'akayana omwana gw'endogoyi. 38ZEC009.010 And I will cut off the chariot from Ephraim, and the horse from Jerusalem, and the battle bow shall be cut off: and he shall speak peace unto the heathen: and his dominion shall be from sea even to sea, and from the river even to the ends of the earth. %%% Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi. 38ZEC009.011 As for thee also, by the blood of thy covenant I have sent forth thy prisoners out of the pit wherein is no water. %%% Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi. 38ZEC009.012 Turn you to the strong hold, ye prisoners of hope: even to day do I declare that I will render double unto thee; %%% Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira: nti ndikuddiza emirundi ebiri. 38ZEC009.013 When I have bent Judah for me, filled the bow with Ephraim, and raised up thy sons, O Zion, against thy sons, O Greece, and made thee as the sword of a mighty man. %%% Kubanga nneewetedde Yuda: omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyina abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira. 38ZEC009.014 And the LORD shall be seen over them, and his arrow shall go forth as the lightning: and the LORD God shall blow the trumpet, and shall go with whirlwinds of the south. %%% Era Mukama alirabika waggulu gye bali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiika obwa ddyo. 38ZEC009.015 The LORD of hosts shall defend them; and they shall devour, and subdue with sling stones; and they shall drink, and make a noise as through wine; and they shall be filled like bowls, and as the corners of the altar. %%% Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ng'ensonda ez'ekyoto. 38ZEC009.016 And the LORD their God shall save them in that day as the flock of his people: for they shall be as the stones of a crown, lifted up as an ensign upon his land. %%% Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye. 38ZEC009.017 For how great is his goodness, and how great is his beauty! corn shall make the young men cheerful, and new wine the maids. %%% Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavukuba, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala. 38ZEC010.001 Ask ye of the LORD rain in the time of the latter rain; so the LORD shall make bright clouds, and give them showers of rain, to every one grass in the field. %%% Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empandaggirize, buli muntu omuddo mu ttale. 38ZEC010.002 For the idols have spoken vanity, and the diviners have seen a lie, and have told false dreams; they comfort in vain: therefore they went their way as a flock, they were troubled, because there was no shepherd. %%% Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga; babonaabona kubanga tewali musumba. 38ZEC010.003 Mine anger was kindled against the shepherds, and I punished the goats: for the LORD of hosts hath visited his flock the house of Judah, and hath made them as his goodly horse in the battle. %%% Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye; ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo. 38ZEC010.004 Out of him came forth the corner, out of him the nail, out of him the battle bow, out of him every oppressor together. %%% Eri ye erivaayo ejjinja ery'oku nsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu. 38ZEC010.005 And they shall be as mighty men, which tread down their enemies in the mire of the streets in the battle: and they shall fight, because the LORD is with them, and the riders on horses shall be confounded. %%% Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala. 38ZEC010.006 And I will strengthen the house of Judah, and I will save the house of Joseph, and I will bring them again to place them; for I have mercy upon them: and they shall be as though I had not cast them off: for I am the LORD their God, and will hear them. %%% Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira. 38ZEC010.007 And they of Ephraim shall be like a mighty man, and their heart shall rejoice as through wine: yea, their children shall see it, and be glad; their heart shall rejoice in the LORD. %%% N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama. 38ZEC010.008 I will hiss for them, and gather them; for I have redeemed them: and they shall increase as they have increased. %%% Ndibayitiriza ndibakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe baayala. 38ZEC010.009 And I will sow them among the people: and they shall remember me in far countries; and they shall live with their children, and turn again. %%% Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo. 38ZEC010.010 I will bring them again also out of the land of Egypt, and gather them out of Assyria; and I will bring them into the land of Gilead and Lebanon; and place shall not be found for them. %%% Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; so tewalibalabikira bbanga. 38ZEC010.011 And he shall pass through the sea with affliction, and shall smite the waves in the sea, and all the deeps of the river shall dry up: and the pride of Assyria shall be brought down, and the sceptre of Egypt shall depart away. %%% Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako. 38ZEC010.012 And I will strengthen them in the LORD; and they shall walk up and down in his name, saith the LORD. %%% Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama. 38ZEC011.001 Open thy doors, O Lebanon, that the fire may devour thy cedars. %%% Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo. 38ZEC011.002 Howl, fir tree; for the cedar is fallen; because the mighty are spoiled: howl, O ye oaks of Bashan; for the forest of the vintage is come down. %%% Kuba ebiwoobe, ggwe omuberoosi, kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese: mukube ebiwoobe, mmwe emyera gya Basani, kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde. 38ZEC011.003 There is a voice of the howling of the shepherds; for their glory is spoiled: a voice of the roaring of young lions; for the pride of Jordan is spoiled. %%% Eddoboozi ery'ebiwoobe eby'abasumba! kubanga obulungi bwabwe bwonoonese: eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento kubanga amalala ga Yoludaani goonoonese. 38ZEC011.004 Thus saith the LORD my God; Feed the flock of the slaughter; %%% Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti Liisa ekisibo eky'okuttibwa; 38ZEC011.005 Whose possessors slay them, and hold themselves not guilty: and they that sell them say, Blessed be the LORD; for I am rich: and their own shepherds pity them not. %%% bannyini zo be bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde: so abasumba baazo zennyini tebazisaasira. 38ZEC011.006 For I will no more pity the inhabitants of the land, saith the LORD: but, lo, I will deliver the men every one into his neighbour's hand, and into the hand of his king: and they shall smite the land, and out of their hand I will not deliver them. %%% Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we: nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe. 38ZEC011.007 And I will feed the flock of slaughter, even you, O poor of the flock. And I took unto me two staves; the one I called Beauty, and the other I called Bands; and I fed the flock. %%% Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, weewaawo, ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Ekisanyukirwa; omulala ne ngutuuma nti Ebisiba; ne ndiisa ekisibo. 38ZEC011.008 Three shepherds also I cut off in one month; and my soul lothed them, and their soul also abhorred me. %%% Ne nziyawo abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange baali bagikooyezza, n'emmeeme yaabwe nayo n'entamwa nze. 38ZEC011.009 Then said I, I will not feed you: that that dieth, let it die; and that that is to be cut off, let it be cut off; and let the rest eat every one the flesh of another. %%% Awo ne njogera nti Siribaliisa; ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane ekimu omubiri gwa kinnaakyo. 38ZEC011.010 And I took my staff, even Beauty, and cut it asunder, that I might break my covenant which I had made with all the people. %%% Ne ntwala omuggo gwange Ekisanyukirwa ne ngusala wakati ndyoke ndibye endagaano yange gye nnalagaana n'amawanga gonna. 38ZEC011.011 And it was broken in that day: and so the poor of the flock that waited upon me knew that it was the word of the LORD. %%% Ne gumenyeka ku lunaku olwo: bwe kityo abanaku ab'omu kisibo abaali bampulira ne bategeera nga kino kye kigambo kya Mukama. 38ZEC011.012 And I said unto them, If ye think good, give me my price; and if not, forbear. So they weighed for my price thirty pieces of silver. %%% Ne mbagamba nti Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu eby'effeeza. 38ZEC011.013 And the LORD said unto me, Cast it unto the potter: a goodly price that I was prised at of them. And I took the thirty pieces of silver, and cast them to the potter in the house of the LORD. %%% Mukama n'aŋŋamba nti Bisuulire omubumbi, omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama. 38ZEC011.014 Then I cut asunder mine other staff, even Bands, that I might break the brotherhood between Judah and Israel. %%% Awo ne nsala wakati omuggo gwange ogw'okubiri Ebisiba, ndibye oluganda eri Yuda ne Isiraeri. 38ZEC011.015 And the LORD said unto me, Take unto thee yet the instruments of a foolish shepherd. %%% Awo Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru. 38ZEC011.016 For, lo, I will raise up a shepherd in the land, which shall not visit those that be cut off, neither shall seek the young one, nor heal that that is broken, nor feed that that standeth still: but he shall eat the flesh of the fat, and tear their claws in pieces. %%% Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alityemulatyemula ebinuulo byazo. 38ZEC011.017 Woe to the idol shepherd that leaveth the flock! the sword shall be upon his arm, and upon his right eye: his arm shall be clean dried up, and his right eye shall be utterly darkened. %%% Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa aleka ekisibo ekitala kiriba ku mukono gwe ne ku liiso lye erya ddyo; omukono gwe gulikalira, n'eriiso lye erya ddyo lirizibira ddala. 38ZEC012.001 The burden of the word of the LORD for Israel, saith the LORD, which stretcheth forth the heavens, and layeth the foundation of the earth, and formeth the spirit of man within him. %%% Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama oguli ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye, nti 38ZEC012.002 Behold, I will make Jerusalem a cup of trembling unto all the people round about, when they shall be in the siege both against Judah and against Jerusalem. %%% Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe eky'okuta gatta, eri amawanga gonna enjuyi zonna, era eriba n'eri Yuda bwe bazingiza Yerusaalemi. 38ZEC012.003 And in that day will I make Jerusalem a burdensome stone for all people: all that burden themselves with it shall be cut in pieces, though all the people of the earth be gathered together against it. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa. 38ZEC012.004 In that day, saith the LORD, I will smite every horse with astonishment, and his rider with madness: and I will open mine eyes upon the house of Judah, and will smite every horse of the people with blindness. %%% Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga. 38ZEC012.005 And the governors of Judah shall say in their heart, The inhabitants of Jerusalem shall be my strength in the LORD of hosts their God. %%% N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti Abali mu Yerusaalemi ge maanyi gange mu Mukama w'eggye Katonda waabwe. 38ZEC012.006 In that day will I make the governors of Judah like an hearth of fire among the wood, and like a torch of fire in a sheaf; and they shall devour all the people round about, on the right hand and on the left: and Jerusalem shall be inhabited again in her own place, even in Jerusalem. %%% Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro oluli mu nku, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono: oliboolyawo Yerusaalemi kiribaawo nate mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi. 38ZEC012.007 The LORD also shall save the tents of Judah first, that the glory of the house of David and the glory of the inhabitants of Jerusalem do not magnify themselves against Judah. %%% Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda. 38ZEC012.008 In that day shall the LORD defend the inhabitants of Jerusalem; and he that is feeble among them at that day shall be as David; and the house of David shall be as God, as the angel of the LORD before them. %%% Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe. 38ZEC012.009 And it shall come to pass in that day, that I will seek to destroy all the nations that come against Jerusalem. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli ndinoonya okuzikiriza amawanga gonna agatabaala Yerusaalemi. 38ZEC012.010 And I will pour upon the house of David, and upon the inhabitants of Jerusalem, the spirit of grace and of supplications: and they shall look upon me whom they have pierced, and they shall mourn for him, as one mourneth for his only son, and shall be in bitterness for him, as one that is in bitterness for his firstborn. %%% Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita: era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye. 38ZEC012.011 In that day shall there be a great mourning in Jerusalem, as the mourning of Hadadrimmon in the valley of Megiddon. %%% Ku lunaku luli balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng'ebiwoobe ebya Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. 38ZEC012.012 And the land shall mourn, every family apart; the family of the house of David apart, and their wives apart; the family of the house of Nathan apart, and their wives apart; %%% Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka; 38ZEC012.013 The family of the house of Levi apart, and their wives apart; the family of Shimei apart, and their wives apart; %%% ekika eky'ennyumba ya Leevi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'Abasimeeyi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; 38ZEC012.014 All the families that remain, every family apart, and their wives apart. %%% ebika byonna ebisigalawo, buli kika kyokka, ne bakazi baabwe bokka. 38ZEC013.001 In that day there shall be a fountain opened to the house of David and to the inhabitants of Jerusalem for sin and for uncleanness. %%% Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi. 38ZEC013.002 And it shall come to pass in that day, saith the LORD of hosts, that I will cut off the names of the idols out of the land, and they shall no more be remembered: and also I will cause the prophets and the unclean spirit to pass out of the land. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu. 38ZEC013.003 And it shall come to pass, that when any shall yet prophesy, then his father and his mother that begat him shall say unto him, Thou shalt not live; for thou speakest lies in the name of the LORD: and his father and his mother that begat him shall thrust him through when he prophesieth. %%% Awo olulituula omuntu ng'akyagenda okulagula kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mulamu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita bw'alagula. 38ZEC013.004 And it shall come to pass in that day, that the prophets shall be ashamed every one of his vision, when he hath prophesied; neither shall they wear a rough garment to deceive: %%% Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe: 38ZEC013.005 But he shall say, I am no prophet, I am an husbandman; for man taught me to keep cattle from my youth. %%% naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange. 38ZEC013.006 And one shall say unto him, What are these wounds in thine hands? Then he shall answer, Those with which I was wounded in the house of my friends. %%% N'omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange. 38ZEC013.007 Awake, O sword, against my shepherd, and against the man that is my fellow, saith the LORD of hosts: smite the shepherd, and the sheep shall be scattered: and I will turn mine hand upon the little ones. %%% Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato. 38ZEC013.008 And it shall come to pass, that in all the land, saith the LORD, two parts therein shall be cut off and die; but the third shall be left therein. %%% Awo olulituuka mu nsi yonna bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo. 38ZEC013.009 And I will bring the third part through the fire, and will refine them as silver is refined, and will try them as gold is tried: they shall call on my name, and I will hear them: I will say, It is my people: and they shall say, The LORD is my God. %%% N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndibakema nga zaabu bw'ekemebwa: balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange. 38ZEC014.001 Behold, the day of the LORD cometh, and thy spoil shall be divided in the midst of thee. %%% Laba, olunaku lwa Mukama lujja, omwandu gwo bwe guli gerekerwa mu ggwe wakati. 38ZEC014.002 For I will gather all nations against Jerusalem to battle; and the city shall be taken, and the houses rifled, and the women ravished; and half of the city shall go forth into captivity, and the residue of the people shall not be cut off from the city. %%% Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi balikwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa okufugibwa obuddu; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekirimalibwawo mu kibuga. 38ZEC014.003 Then shall the LORD go forth, and fight against those nations, as when he fought in the day of battle. %%% Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo. 38ZEC014.004 And his feet shall stand in that day upon the mount of Olives, which is before Jerusalem on the east, and the mount of Olives shall cleave in the midst thereof toward the east and toward the west, and there shall be a very great valley; and half of the mountain shall remove toward the north, and half of it toward the south. %%% Era aliyimirira n'ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n'olusozi olwa Zeyituuni lulyatika wakati waalwo ebuvanjuba n'ebugwanjuba, era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo; ekitundu ekimu eky'olusozi kirijjulukuka okugenda obukiika obwa kkono, n'ekitundu kyalwo ekimu okugenda obukiika obwa ddyo. 38ZEC014.005 And ye shall flee to the valley of the mountains; for the valley of the mountains shall reach unto Azal: yea, ye shall flee, like as ye fled from before the earthquake in the days of Uzziah king of Judah: and the LORD my God shall come, and all the saints with thee. %%% Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda: era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe. 38ZEC014.006 And it shall come to pass in that day, that the light shall not be clear, nor dark: %%% Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza, 38ZEC014.007 But it shall be one day which shall be known to the LORD, not day, nor night: but it shall come to pass, that at evening time it shall be light. %%% naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro: naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana. 38ZEC014.008 And it shall be in that day, that living waters shall go out from Jerusalem; half of them toward the former sea, and half of them toward the hinder sea: in summer and in winter shall it be. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey'ebuvanjuba n'ekitundu kyago mu nnyanja ey'ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttoggo. 38ZEC014.009 And the LORD shall be king over all the earth: in that day shall there be one LORD, and his name one. %%% Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu. 38ZEC014.010 All the land shall be turned as a plain from Geba to Rimmon south of Jerusalem: and it shall be lifted up, and inhabited in her place, from Benjamin's gate unto the place of the first gate, unto the corner gate, and from the tower of Hananeel unto the king's winepresses. %%% Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogw'olubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 38ZEC014.011 And men shall dwell in it, and there shall be no more utter destruction; but Jerusalem shall be safely inhabited. %%% Era abantu balibeera mu kyo, so nga tewakyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo mirembe. 38ZEC014.012 And this shall be the plague wherewith the LORD will smite all the people that have fought against Jerusalem; Their flesh shall consume away while they stand upon their feet, and their eyes shall consume away in their holes, and their tongue shall consume away in their mouth. %%% Na kino kye kibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. 38ZEC014.013 And it shall come to pass in that day, that a great tumult from the LORD shall be among them; and they shall lay hold every one on the hand of his neighbour, and his hand shall rise up against the hand of his neighbour. %%% Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne. 38ZEC014.014 And Judah also shall fight at Jerusalem; and the wealth of all the heathen round about shall be gathered together, gold, and silver, and apparel, in great abundance. %%% Era ne Yuda alirwana ne Yerusaalemi; era obugagga obw'amawanga gonna agaliraanyeewo bulikuŋŋaana, zaabu n'effeeza n'ebyambalo, bingi nnyo nnyini. 38ZEC014.015 And so shall be the plague of the horse, of the mule, of the camel, and of the ass, and of all the beasts that shall be in these tents, as this plague. %%% Era bwe kityo bwe kiriba ekibonoobono eky'embalaasi n'eky'ennyumbu n'eky'eŋŋamira n'eky'endogoyi n'ensolo zonna eziriba mu bisulo biri, ng'ekibonoobono ekyo bwe kiriba. 38ZEC014.016 And it shall come to pass, that every one that is left of all the nations which came against Jerusalem shall even go up from year to year to worship the King, the LORD of hosts, and to keep the feast of tabernacles. %%% Awo olulituuka buli muntu asigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira. 38ZEC014.017 And it shall be, that whoso will not come up of all the families of the earth unto Jerusalem to worship the King, the LORD of hosts, even upon them shall be no rain. %%% Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera. 38ZEC014.018 And if the family of Egypt go not up, and come not, that have no rain; there shall be the plague, wherewith the LORD will smite the heathen that come not up to keep the feast of tabernacles. %%% Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira. 38ZEC014.019 This shall be the punishment of Egypt, and the punishment of all nations that come not up to keep the feast of tabernacles. %%% Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ebisiisira. 38ZEC014.020 In that day shall there be upon the bells of the horses, HOLINESS UNTO THE LORD; and the pots in the LORD's house shall be like the bowls before the altar. %%% Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti OBUTUKUVU ERI MUKAMA; era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto. 38ZEC014.021 Yea, every pot in Jerusalem and in Judah shall be holiness unto the LORD of hosts: and all they that sacrifice shall come and take of them, and seethe therein: and in that day there shall be no more the Canaanite in the house of the LORD of hosts. %%% Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo: era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye. 39MAL001.001 The burden of the word of the LORD to Israel by Malachi. %%% Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyajjira mu Malaki. 39MAL001.002 I have loved you, saith the LORD. Yet ye say, Wherein hast thou loved us? Was not Esau Jacob's brother? saith the LORD: yet I loved Jacob, %%% Nnabaagala, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Watwagala otya? Esawu teyali muganda wa Yakobo? bw'ayogera Mukama: era naye nnamwagala Yakobo; 39MAL001.003 And I hated Esau, and laid his mountains and his heritage waste for the dragons of the wilderness. %%% naye Esawu nnamukyawa, ne nfuula ensozi ze okuba amatongo, ne mpa obusika bwe ebibe eby'omu ddungu. 39MAL001.004 Whereas Edom saith, We are impoverished, but we will return and build the desolate places; thus saith the LORD of hosts, They shall build, but I will throw down; and they shall call them, The border of wickedness, and, The people against whom the LORD hath indignation for ever. %%% Kubanga Edomu ayogera nti Tukubiddwa wansi, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika; bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bo balizimba, naye nze ndyabya: era abantu banaabayitanga nti Nsalo ya bubi, era nti Bantu Mukama b'anyiigira ennaku zonna. 39MAL001.005 And your eyes shall see, and ye shall say, The LORD will be magnified from the border of Israel. %%% Era amaaso gammwe galiraba, ne mwogera nti Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isiraeri. 39MAL001.006 A son honoureth his father, and a servant his master: if then I be a father, where is mine honour? and if I be a master, where is my fear? saith the LORD of hosts unto you, O priests, that despise my name. And ye say, Wherein have we despised thy name? %%% Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? era oba nga ndi mukama kitammwe okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ai bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti Twali tunyoomye tutya erinnya lyo? 39MAL001.007 Ye offer polluted bread upon mine altar; and ye say, Wherein have we polluted thee? In that ye say, The table of the LORD is contemptible. %%% Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti Twakwonoona tutya? Kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama teriimu ka buntu. 39MAL001.008 And if ye offer the blind for sacrifice, is it not evil? and if ye offer the lame and sick, is it not evil? offer it now unto thy governor; will he be pleased with thee, or accept thy person? saith the LORD of hosts. %%% Era bwe muwaayo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, nga si bubi! era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, nga si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? oba anakkiriza amaaso go? bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL001.009 And now, I pray you, beseech God that he will be gracious unto us: this hath been by your means: will he regard your persons? saith the LORD of hosts. %%% Kale nno mbeegayiridde musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa: ebyo byabaawo ku bwammwe: waliwo ku mmwe gw'anakkirizaako amaaso ge? bw'ayogera Mukama w’eggye. 39MAL001.010 Who is there even among you that would shut the doors for nought? neither do ye kindle fire on mine altar for nought. I have no pleasure in you, saith the LORD of hosts, neither will I accept an offering at your hand. %%% Mu mmwe singa mubaddemu n'omu eyandiggaddewo enzigi, muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange obwereere! Sibasanyukira n'akatono, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sikkirize kiweebwayo eri omukono gwammwe. 39MAL001.011 For from the rising of the sun even unto the going down of the same my name shall be great among the Gentiles; and in every place incense shall be offered unto my name, and a pure offering: for my name shall be great among the heathen, saith the LORD of hosts. %%% Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu: kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL001.012 But ye have profaned it, in that ye say, The table of the LORD is polluted; and the fruit thereof, even his meat, is contemptible. %%% Naye mmwe mulivumisa kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ye mmere ye, teriimu ka buntu. 39MAL001.013 Ye said also, Behold, what a weariness is it! and ye have snuffed at it, saith the LORD of hosts; and ye brought that which was torn, and the lame, and the sick; thus ye brought an offering: should I accept this of your hand? saith the LORD. %%% Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! era mugisoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nnandikkirizza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama. 39MAL001.014 But cursed be the deceiver, which hath in his flock a male, and voweth, and sacrificeth unto the LORD a corrupt thing: for I am a great King, saith the LORD of hosts, and my name is dreadful among the heathen. %%% Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema: kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga. 39MAL002.001 And now, O ye priests, this commandment is for you. %%% Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. 39MAL002.002 If ye will not hear, and if ye will not lay it to heart, to give glory unto my name, saith the LORD of hosts, I will even send a curse upon you, and I will curse your blessings: yea, I have cursed them already, because ye do not lay it to heart. %%% Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe: weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo. 39MAL002.003 Behold, I will corrupt your seed, and spread dung upon your faces, even the dung of your solemn feasts; and one shall take you away with it. %%% Laba, ndinenya ensigo ku lwammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe,obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo. 39MAL002.004 And ye shall know that I have sent this commandment unto you, that my covenant might be with Levi, saith the LORD of hosts. %%% Awo mulimanya nga nze nnaweereza ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebeere ne Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL002.005 My covenant was with him of life and peace; and I gave them to him for the fear wherewith he feared me, and was afraid before my name. %%% Endagaano yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange. 39MAL002.006 The law of truth was in his mouth, and iniquity was not found in his lips: he walked with me in peace and equity, and did turn many away from iniquity. %%% Etteeka ery'amazima lyabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gye: yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu. 39MAL002.007 For the priest's lips should keep knowledge, and they should seek the law at his mouth: for he is the messenger of the LORD of hosts. %%% Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era bandinoonyezza amateeka mu kamwa ke: kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye. 39MAL002.008 But ye are departed out of the way; ye have caused many to stumble at the law; ye have corrupted the covenant of Levi, saith the LORD of hosts. %%% Naye mmwe mukyuse mukyamye mu kkubo; musittazizza bangi mu mateeka; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL002.009 Therefore have I also made you contemptible and base before all the people, according as ye have not kept my ways, but have been partial in the law. %%% Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, nga bwe mutakwata makubo gange naye ne mussaayo omwoyo eri amaaso g'abantu mu mateeka. 39MAL002.010 Have we not all one father? hath not one God created us? why do we deal treacherously every man against his brother, by profaning the covenant of our fathers? %%% Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? tukuusizakuusiza ki buli muntu muganda we, nga twonoona endagaano ya bajjajjaffe? 39MAL002.011 Judah hath dealt treacherously, and an abomination is committed in Israel and in Jerusalem; for Judah hath profaned the holiness of the LORD which he loved, and hath married the daughter of a strange god. %%% Yuda akuusizzakuusizza, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi: kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga. 39MAL002.012 The LORD will cut off the man that doeth this, the master and the scholar, out of the tabernacles of Jacob, and him that offereth an offering unto the LORD of hosts. %%% Akola bw'atyo Mukama alimuzikiririza oyo azuukuka n'oyo ayitaba, okuva mu weema za Yakobo, n'oyo awaayo ekiweebwayo , eri Mukama w'eggye: 39MAL002.013 And this have ye done again, covering the altar of the LORD with tears, with weeping, and with crying out, insomuch that he regardeth not the offering any more, or receiveth it with good will at your hand. %%% Era na kino nakyo mukikola: mubikka ekyoto kya Mukama amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, n'okussaayo n'atassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo so takikkiriza mu mukono gwammwe ng'asiimye. 39MAL002.014 Yet ye say, Wherefore? Because the LORD hath been witness between thee and the wife of thy youth, against whom thou hast dealt treacherously: yet is she thy companion, and the wife of thy covenant. %%% Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano. 39MAL002.015 And did not he make one? Yet had he the residue of the spirit. And wherefore one? That he might seek a godly seed. Therefore take heed to your spirit, and let none deal treacherously against the wife of his youth. %%% Era teyakola omu? newakubadde ng'alina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe. 39MAL002.016 For the LORD, the God of Israel, saith that he hateth putting away: for one covereth violence with his garment, saith the LORD of hosts: therefore take heed to your spirit, that ye deal not treacherously. %%% Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga. 39MAL002.017 Ye have wearied the LORD with your words. Yet ye say, Wherein have we wearied him? When ye say, Every one that doeth evil is good in the sight of the LORD, and he delighteth in them; or, Where is the God of judgment? %%% Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti Twamukooya tutya? Kubanga mwogera nti Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda nnannyini musango ali ludda wa? 39MAL003.001 Behold, I will send my messenger, and he shall prepare the way before me: and the LORD, whom ye seek, shall suddenly come to his temple, even the messenger of the covenant, whom ye delight in: behold, he shall come, saith the LORD of hosts. %%% Laba, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja; bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL003.002 But who may abide the day of his coming? and who shall stand when he appeareth? for he is like a refiner's fire, and like fullers' soap: %%% Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi: 39MAL003.003 And he shall sit as a refiner and purifier of silver: and he shall purify the sons of Levi, and purge them as gold and silver, that they may offer unto the LORD an offering in righteousness. %%% era alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. 39MAL003.004 Then shall the offering of Judah and Jerusalem be pleasant unto the LORD, as in the days of old, and as in former years. %%% Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo. 39MAL003.005 And I will come near to you to judgment; and I will be a swift witness against the sorcerers, and against the adulterers, and against false swearers, and against those that oppress the hireling in his wages, the widow, and the fatherless, and that turn aside the stranger from his right, and fear not me, saith the LORD of hosts. %%% Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; nnamwandu n'atalina kitaawe, en abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL003.006 For I am the LORD, I change not; therefore ye sons of Jacob are not consumed. %%% Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo. 39MAL003.007 Even from the days of your fathers ye are gone away from mine ordinances, and have not kept them. Return unto me, and I will return unto you, saith the LORD of hosts. But ye said, Wherein shall we return? %%% Okuva ku nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nt Tunadda tutya? 39MAL003.008 Will a man rob God? Yet ye have robbed me. But ye say, Wherein have we robbed thee? In tithes and offerings. %%% Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo. 39MAL003.009 Ye are cursed with a curse: for ye have robbed me, even this whole nation. %%% Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze; eggwanga lino lyonna. 39MAL003.010 Bring ye all the tithes into the storehouse, that there may be meat in mine house, and prove me now herewith, saith the LORD of hosts, if I will not open you the windows of heaven, and pour you out a blessing, that there shall not be room enough to receive it. %%% Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya. 39MAL003.011 And I will rebuke the devourer for your sakes, and he shall not destroy the fruits of your ground; neither shall your vine cast her fruit before the time in the field, saith the LORD of hosts. %%% Era ndinenya omuli ku lwanmwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwanmwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL003.012 And all nations shall call you blessed: for ye shall be a delightsome land, saith the LORD of hosts. %%% Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL003.013 Your words have been stout against me, saith the LORD. Yet ye say, What have we spoken so much against thee? %%% Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu eri nze, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Twakwogerako tutya? 39MAL003.014 Ye have said, It is vain to serve God: and what profit is it that we have kept his ordinance, and that we have walked mournfully before the LORD of hosts? %%% Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteredde? 39MAL003.015 And now we call the proud happy; yea, they that work wickedness are set up; yea, they that tempt God are even delivered. %%% Era kaakano ab'amalala betuyita ab'omukisa: weewaawo, bo abakola obubi bazimbibwa; weewaawo, bakema Katonda ne bawonyezebwa. 39MAL003.016 Then they that feared the LORD spake often one to another: and the LORD hearkened, and heard it, and a book of remembrance was written before him for them that feared the LORD, and that thought upon his name. %%% Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinya lye. 39MAL003.017 And they shall be mine, saith the LORD of hosts, in that day when I make up my jewels; and I will spare them, as a man spareth his own son that serveth him. %%% Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza. 39MAL003.018 Then shall ye return, and discern between the righteous and the wicked, between him that serveth God and him that serveth him not. %%% Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza. 39MAL004.001 For, behold, the day cometh, that shall burn as an oven; and all the proud, yea, and all that do wickedly, shall be stubble: and the day that cometh shall burn them up, saith the LORD of hosts, that it shall leave them neither root nor branch. %%% Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi. 39MAL004.002 But unto you that fear my name shall the Sun of righteousness arise with healing in his wings; and ye shall go forth, and grow up as calves of the stall. %%% Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo. 39MAL004.003 And ye shall tread down the wicked; for they shall be ashes under the soles of your feet in the day that I shall do this, saith the LORD of hosts. %%% Era mulirinnyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye. 39MAL004.004 Remember ye the law of Moses my servant, which I commanded unto him in Horeb for all Israel, with the statutes and judgments. %%% Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagiririra ku Kolebu olwa Isiraeri yenna, ebiragiro n'emisango. 39MAL004.005 Behold, I will send you Elijah the prophet before the coming of the great and dreadful day of the LORD: %%% Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. 39MAL004.006 And he shall turn the heart of the fathers to the children, and the heart of the children to their fathers, lest I come and smite the earth with a curse. %%% Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo. 40MAT001.001 The book of the generation of Jesus Christ, the son of David, the son of Abraham. %%% Ekitabo eky'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu. 40MAT001.002 Abraham begat Isaac; and Isaac begat Jacob; and Jacob begat Judas and his brethren; %%% Ibulayimu yazaala lsaaka; Isaaka n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be; 40MAT001.003 And Judas begat Phares and Zara of Thamar; and Phares begat Esrom; and Esrom begat Aram; %%% Yuda n'azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali; Pereezi n'azaala Keezulooni; Keezulooni n'azaala Laamu; 40MAT001.004 And Aram begat Aminadab; and Aminadab begat Naasson; and Naasson begat Salmon; %%% Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nasoni; Nasoni n'azaala Salumooni; 40MAT001.005 And Salmon begat Booz of Rachab; and Booz begat Obed of Ruth; and Obed begat Jesse; %%% Salumooni n'azaala Bowaazi mu Lakabu; Bowaazi n'azaala Obedi mu Luusi; Obedi n'azaala Yese; 40MAT001.006 And Jesse begat David the king; and David the king begat Solomon of her that had been the wife of Urias; %%% Yese n'azaala Dawudi kabaka. Dawudi n'azaala Sulemaani mu muka Uliya; 40MAT001.007 And Solomon begat Roboam; and Roboam begat Abia; and Abia begat Asa; %%% Sulemaani n'azaala Lekobowaamu; Lekobowaamu n'azaala Abiya; Abiya n'azaala Asa; 40MAT001.008 And Asa begat Josaphat; and Josaphat begat Joram; and Joram begat Ozias; %%% Asa n'azaala Yekosafaati; Yekosafaati n'azaala Yolaamu; Yolaamu n'azaala Uzziya; 40MAT001.009 And Ozias begat Joatham; and Joatham begat Achaz; and Achaz begat Ezekias; %%% Uzziya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi; Akasi n'azaala Kezeekiya; 40MAT001.010 And Ezekias begat Manasses; and Manasses begat Amon; and Amon begat Josias; %%% Kezeekiya n'azaala Manaase; Manaase n'azaala Amoni; Amoni n'azaala Yosiya; 40MAT001.011 And Josias begat Jechonias and his brethren, about the time they were carried away to Babylon: %%% Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biro eby'okutwalibwa e Babulooni. 40MAT001.012 And after they were brought to Babylon, Jechonias begat Salathiel; and Salathiel begat Zorobabel; %%% Oluvannyuma olw'okutwalibwa e Babulooni, Yekoniya n'azaala Seyalutyeri; Seyalutyeri n'azaala Zerubbaberi; 40MAT001.013 And Zorobabel begat Abiud; and Abiud begat Eliakim; and Eliakim begat Azor; %%% Zerubbaberi n'azaala Abiwuudi; Abiwuudi n'azaala Eriyakimu; Eriyakimu n'azaala Azoli; 40MAT001.014 And Azor begat Sadoc; and Sadoc begat Achim; and Achim begat Eliud; %%% Azoli n'azaala Sadoki; Sadoki n'azaala Akimu; Akimu n'azaala Eriwuudi; 40MAT001.015 And Eliud begat Eleazar; and Eleazar begat Matthan; and Matthan begat Jacob; %%% Eriwuudi n'azaala Ereyazaali; Ereyazaali n'azaala Mataani; Mataani n'azaala Yakobo; 40MAT001.016 And Jacob begat Joseph the husband of Mary, of whom was born Jesus, who is called Christ. %%% Yakobo n'azaala Yusufu, eyali bba Malyamu, eyazaala Yesu ayitibwa Kristo. 40MAT001.017 So all the generations from Abraham to David are fourteen generations; and from David until the carrying away into Babylon are fourteen generations; and from the carrying away into Babylon unto Christ are fourteen generations. %%% Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babulooni, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku kutwalibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena. 40MAT001.018 Now the birth of Jesus Christ was on this wise: When as his mother Mary was espoused to Joseph, before they came together, she was found with child of the Holy Ghost. %%% N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu. 40MAT001.019 Then Joseph her husband, being a just man, and not willing to make her a publick example, was minded to put her away privily. %%% Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, yali alowooza okumulekayo kyama. 40MAT001.020 But while he thought on these things, behold, the angel of the LORD appeared unto him in a dream, saying, Joseph, thou son of David, fear not to take unto thee Mary thy wife: for that which is conceived in her is of the Holy Ghost. %%% Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu. 40MAT001.021 And she shall bring forth a son, and thou shalt call his name JESUS: for he shall save his people from their sins. %%% Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe. 40MAT001.022 Now all this was done, that it might be fulfilled which was spoken of the Lord by the prophet, saying, %%% Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire Mukama bye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti, 40MAT001.023 Behold, a virgin shall be with child, and shall bring forth a son, and they shall call his name Emmanuel, which being interpreted is, God with us. %%% Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe. 40MAT001.024 Then Joseph being raised from sleep did as the angel of the Lord had bidden him, and took unto him his wife: %%% Yusufu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagira, n'atwala mukazi we, 40MAT001.025 And knew her not till she had brought forth her firstborn son: and he called his name JESUS. %%% so teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana: n'amutuuma erinnya lye YESU. 40MAT002.001 Now when Jesus was born in Bethlehem of Judaea in the days of Herod the king, behold, there came wise men from the east to Jerusalem, %%% Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, 40MAT002.002 Saying, Where is he that is born King of the Jews? for we have seen his star in the east, and are come to worship him. %%% nga bagamba nti Ali ludda wa oyo eyazaalibwa Kabaka w'Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ebuvanjuba, ne tujja okumusinza. 40MAT002.003 When Herod the king had heard these things, he was troubled, and all Jerusalem with him. %%% Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna. 40MAT002.004 And when he had gathered all the chief priests and scribes of the people together, he demanded of them where Christ should be born. %%% N'akuŋŋanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza nti Kristo alizaalibwa wa? 40MAT002.005 And they said unto him, In Bethlehem of Judaea: for thus it is written by the prophet, %%% Nabo ne bamugamba nti Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya: kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti 40MAT002.006 And thou Bethlehem, in the land of Juda, art not the least among the princes of Juda: for out of thee shall come a Governor, that shall rule my people Israel. %%% Naawe Besirekemu, ensi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda: Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri. 40MAT002.007 Then Herod, when he had privily called the wise men, enquired of them diligently what time the star appeared. %%% Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okulabika. 40MAT002.008 And he sent them to Bethlehem, and said, Go and search diligently for the young child; and when ye have found him, bring me word again, that I may come and worship him also. %%% N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti Mugende munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke njije mmusinze. 40MAT002.009 When they had heard the king, they departed; and, lo, the star, which they saw in the east, went before them, till it came and stood over where the young child was. %%% Bwe baawulira kabaka, ne bagenda; laba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, n'ejja n'eyimirira waggulu omwana w'ali. 40MAT002.010 When they saw the star, they rejoiced with exceeding great joy. %%% Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essaayu lingi nnyo. 40MAT002.011 And when they were come into the house, they saw the young child with Mary his mother, and fell down, and worshipped him: and when they had opened their treasures, they presented unto him gifts; gold, and frankincense, and myrrh. %%% Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu. 40MAT002.012 And being warned of God in a dream that they should not return to Herod, they departed into their own country another way. %%% Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode ne baddayo ewaabwe mu kkubo eddala. 40MAT002.013 And when they were departed, behold, the angel of the Lord appeareth to Joseph in a dream, saying, Arise, and take the young child and his mother, and flee into Egypt, and be thou there until I bring thee word: for Herod will seek the young child to destroy him. %%% Laba, bwe baamala okugenda malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, ng'amugamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba; kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta. 40MAT002.014 When he arose, he took the young child and his mother by night, and departed into Egypt: %%% Naye n'azuukuka n'atwala omwana ne nnyina ekiro n'agenda e Misiri; 40MAT002.015 And was there until the death of Herod: that it might be fulfilled which was spoken of the Lord by the prophet, saying, Out of Egypt have I called my son. %%% n'abeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti Nnayita omwana wange okuva mu Misiri. 40MAT002.016 Then Herod, when he saw that he was mocked of the wise men, was exceeding wroth, and sent forth, and slew all the children that were in Bethlehem, and in all the coasts thereof, from two years old and under, according to the time which he had diligently enquired of the wise men. %%% Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali. 40MAT002.017 Then was fulfilled that which was spoken by Jeremy the prophet, saying, %%% Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti 40MAT002.018 In Rama was there a voice heard, lamentation, and weeping, and great mourning, Rachel weeping for her children, and would not be comforted, because they are not. %%% Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So teyayagala kukubagizibwa, kubanga tewakyali. 40MAT002.019 But when Herod was dead, behold, an angel of the Lord appeareth in a dream to Joseph in Egypt, %%% Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 40MAT002.020 Saying, Arise, and take the young child and his mother, and go into the land of Israel: for they are dead which sought the young child's life. %%% ng'agamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri: kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde. 40MAT002.021 And he arose, and took the young child and his mother, and came into the land of Israel. %%% N'agolokoka, n'atwala omwana ne nayina, n'ajja mu nsi ya Isiraeri. 40MAT002.022 But when he heard that Archelaus did reign in Judaea in the room of his father Herod, he was afraid to go thither: notwithstanding, being warned of God in a dream, he turned aside into the parts of Galilee: %%% Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Naye Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'ayita ku luuyi lwe Ggaliraaya, 40MAT002.023 And he came and dwelt in a city called Nazareth: that it might be fulfilled which was spoken by the prophets, He shall be called a Nazarene. %%% n'ajja n'abeera mu kyalo, erinnya lyakyo Nazaaleesi: ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire, nti Aliyitibwa Munazaalaayo. 40MAT003.001 In those days came John the Baptist, preaching in the wilderness of Judaea, %%% Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja ng'abuulirira mu ddungu ery'e Buyudaaya, 40MAT003.002 And saying, Repent ye: for the kingdom of heaven is at hand. %%% ng'agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka. 40MAT003.003 For this is he that was spoken of by the prophet Esaias, saying, The voice of one crying in the wilderness, Prepare ye the way of the Lord, make his paths straight. %%% Kubanga oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge. 40MAT003.004 And the same John had his raiment of camel's hair, and a leathern girdle about his loins; and his meat was locusts and wild honey. %%% Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yali nzige na mubisi gw'enjuki ez'omu nsiko. 40MAT003.005 Then went out to him Jerusalem, and all Judaea, and all the region round about Jordan, %%% Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali; 40MAT003.006 And were baptized of him in Jordan, confessing their sins. %%% n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe. 40MAT003.007 But when he saw many of the Pharisees and Sadducees come to his baptism, he said unto them, O generation of vipers, who hath warned you to flee from the wrath to come? %%% Naye Lwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajjirira okubatiza kwe n'abagamba nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 40MAT003.008 Bring forth therefore fruits meet for repentance: %%% Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya; 40MAT003.009 And think not to say within yourselves, We have Abraham to our father: for I say unto you, that God is able of these stones to raise up children unto Abraham. %%% temulowooza kwogera mu mitima nti Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana. 40MAT003.010 And now also the axe is laid unto the root of the trees: therefore every tree which bringeth not forth good fruit is hewn down, and cast into the fire. %%% Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti: buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro. 40MAT003.011 I indeed baptize you with water unto repentance: but he that cometh after me is mightier than I, whose shoes I am not worthy to bear: he shall baptize you with the Holy Ghost, and with fire: %%% Nze mbabatiza na mazzi olw'okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro. 40MAT003.012 Whose fan is in his hand, and he will throughly purge his floor, and gather his wheat into the garner; but he will burn up the chaff with unquenchable fire. %%% Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira. 40MAT003.013 Then cometh Jesus from Galilee to Jordan unto John, to be baptized of him. %%% Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize. 40MAT003.014 But John forbad him, saying, I have need to be baptized of thee, and comest thou to me? %%% Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gye ndi? 40MAT003.015 And Jesus answering said unto him, Suffer it to be so now: for thus it becometh us to fulfil all righteousness. Then he suffered him. %%% Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okntuukiriza obutuukirivu bwonna. N'alyoka amukkiriza. 40MAT003.016 And Jesus, when he was baptized, went up straightway out of the water: and, lo, the heavens were opened unto him, and he saw the Spirit of God descending like a dove, and lighting upon him: %%% Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye; 40MAT003.017 And lo a voice from heaven, saying, This is my beloved Son, in whom I am well pleased. %%% laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo. 40MAT004.001 Then was Jesus led up of the Spirit into the wilderness to be tempted of the devil. %%% Awo Yesu n'atwalibwa Omwoyo mu ddungu okukemebwa Setaani. 40MAT004.002 And when he had fasted forty days and forty nights, he was afterward an hungred. %%% Bwe yamala okusiiba ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro, enjala n'eryoka emuluma. 40MAT004.003 And when the tempter came to him, he said, If thou be the Son of God, command that these stones be made bread. %%% Omukemi n'ajja n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere. 40MAT004.004 But he answered and said, It is written, Man shall not live by bread alone, but by every word that proceedeth out of the mouth of God. %%% Naye n'addamu n'agamba nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda. 40MAT004.005 Then the devil taketh him up into the holy city, and setteth him on a pinnacle of the temple, %%% Awo Setaani n'amutwala ku kibuga ekitukuvu n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, 40MAT004.006 And saith unto him, If thou be the Son of God, cast thyself down: for it is written, He shall give his angels charge concerning thee: and in their hands they shall bear thee up, lest at any time thou dash thy foot against a stone. %%% n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi: kubanga kyawandiikibwa nti Alikulagiririza bamalayika be: Mu mikono gyabwe balikuwanirira, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja. 40MAT004.007 Jesus said unto him, It is written again, Thou shalt not tempt the Lord thy God. %%% Yesu n'amugamba nti Kyawandiikibwa nate nti Tokemanga Mukama Katonda wo. 40MAT004.008 Again, the devil taketh him up into an exceeding high mountain, and sheweth him all the kingdoms of the world, and the glory of them; %%% Ate Setaani n'amutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n'ekitiibwa kyazo; 40MAT004.009 And saith unto him, All these things will I give thee, if thou wilt fall down and worship me. %%% n'amugamba nti Ebyo byonna naabikuwa bw'onoovuunama okunsinza. 40MAT004.010 Then saith Jesus unto him, Get thee hence, Satan: for it is written, Thou shalt worship the Lord thy God, and him only shalt thou serve. %%% Awo Yesu n'amugamba nti Vaawo genda, Setaani: kubanga kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo; era omuweerezanga yekka. 40MAT004.011 Then the devil leaveth him, and, behold, angels came and ministered unto him. %%% Awo Setaani n'amuleka; laba, bamalayika ne bajja, ne bamuweereza. 40MAT004.012 Now when Jesus had heard that John was cast into prison, he departed into Galilee; %%% Awo bwe yawulira nga Yokaana bamuwaddeyo, n'addayo e Ggaliraaya; 40MAT004.013 And leaving Nazareth, he came and dwelt in Capernaum, which is upon the sea coast, in the borders of Zabulon and Nephthalim: %%% ng'avudde e Nazaaleesi, n'ajja, n'abeera e Kaperunawumu, ekiri ku nnyanja, mu nsi ya Zebbulooni ne Nafutaali: 40MAT004.014 That it might be fulfilled which was spoken by Esaias the prophet, saying, %%% ekigambo kituukirire nnabbi Isaaya kye yayogera, ng'agamba nti 40MAT004.015 The land of Zabulon, and the land of Nephthalim, by the way of the sea, beyond Jordan, Galilee of the Gentiles; %%% Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, Ekkubo ly'ennyanja, emitala wa Yoludaani, e Ggaliraaya ey'amawanga. 40MAT004.016 The people which sat in darkness saw great light; and to them which sat in the region and shadow of death light is sprung up. %%% Abantu abaali batuula mu kizikiza, Baalaba omusana mungi, N'abo abaali batuula mu nsi y'okufa ne mu kisiikirize kyakwo, Omusana gwabaakira. 40MAT004.017 From that time Jesus began to preach, and to say, Repent: for the kingdom of heaven is at hand. %%% Yesu n'asookera awo okubuulira n'okugamba nti Mwenenye; kubanga okwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka. 40MAT004.018 And Jesus, walking by the sea of Galilee, saw two brethren, Simon called Peter, and Andrew his brother, casting a net into the sea: for they were fishers. %%% Bwe yali ng'atambula ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya, n'alaba ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayita Peetero, ne Andereya muganda we, nga basuula omugonjo mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 40MAT004.019 And he saith unto them, Follow me, and I will make you fishers of men. %%% N'abagamba nti Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b'abantu. 40MAT004.020 And they straightway left their nets, and followed him. %%% Amangu ago ne baleka emigonjo, ne bayita naye: 40MAT004.021 And going on from thence, he saw other two brethren, James the son of Zebedee, and John his brother, in a ship with Zebedee their father, mending their nets; and he called them. %%% N'atambulako mu maaso n'alaba ab'oluganda babiri abalala, Yakobo omwana wa Zebedaayo, ne Yokaana muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebeedaayo, nga bayunga emigonjo gyabwe; n'abayita. 40MAT004.022 And they immediately left the ship and their father, and followed him. %%% Amangu ago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bagenda naye. 40MAT004.023 And Jesus went about all Galilee, teaching in their synagogues, and preaching the gospel of the kingdom, and healing all manner of sickness and all manner of disease among the people. %%% Yesu n'abuna Ggaliraaya yonna, ng'abayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna mu bantu. 40MAT004.024 And his fame went throughout all Syria: and they brought unto him all sick people that were taken with divers diseases and torments, and those which were possessed with devils, and those which were lunatick, and those that had the palsy; and he healed them. %%% Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonna: ne bamuleetera bonna abaali balwadde, abaali bakwatiddwa endwadde ezitali zimu, n’ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu; n'ab'ensimbu, n'abaali bakoozimbye; n'abawonya. 40MAT004.025 And there followed him great multitudes of people from Galilee, and from Decapolis, and from Jerusalem, and from Judaea, and from beyond Jordan. %%% Ebibiina bingi, nga bava e Ggaliraaya n’e Dekapoli n'e Yerusaalemi n’e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani ne bayita naye. 40MAT005.001 And seeing the multitudes, he went up into a mountain: and when he was set, his disciples came unto him: %%% Bwe yalaba ebibiina, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy'ali. 40MAT005.002 And he opened his mouth, and taught them, saying, %%% n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti 40MAT005.003 Blessed are the poor in spirit: for theirs is the kingdom of heaven. %%% Balina omukisa abaavu mu mwoyo: kubanga abo obwakabaka abw'omu ggulu bwe bwabwe. 40MAT005.004 Blessed are they that mourn: for they shall be comforted. %%% Balina omukisa abali mu nnaku: kubanga abo balisanyusibwa. 40MAT005.005 Blessed are the meek: for they shall inherit the earth. %%% Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi. 40MAT005.006 Blessed are they which do hunger and thirst after righteousness: for they shall be filled. %%% Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo balikkusibwa. 40MAT005.007 Blessed are the merciful: for they shall obtain mercy. %%% Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa. 40MAT005.008 Blessed are the pure in heart: for they shall see God. %%% Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda. 40MAT005.009 Blessed are the peacemakers: for they shall be called the children of God. %%% Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda. 40MAT005.010 Blessed are they which are persecuted for righteousness' sake: for theirs is the kingdom of heaven. %%% Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe. 40MAT005.011 Blessed are ye, when men shall revile you, and persecute you, and shall say all manner of evil against you falsely, for my sake. %%% Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. 40MAT005.012 Rejoice, and be exceeding glad: for great is your reward in heaven: for so persecuted they the prophets which were before you. %%% Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe. 40MAT005.013 Ye are the salt of the earth: but if the salt have lost his savour, wherewith shall it be salted? it is thenceforth good for nothing, but to be cast out, and to be trodden under foot of men. %%% Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira. 40MAT005.014 Ye are the light of the world. A city that is set on an hill cannot be hid. %%% Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa. 40MAT005.015 Neither do men light a candle, and put it under a bushel, but on a candlestick; and it giveth light unto all that are in the house. %%% So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju. 40MAT005.016 Let your light so shine before men, that they may see your good works, and glorify your Father which is in heaven. %%% Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu. 40MAT005.017 Think not that I am come to destroy the law, or the prophets: I am not come to destroy, but to fulfil. %%% Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza. 40MAT005.018 For verily I say unto you, Till heaven and earth pass, one jot or one tittle shall in no wise pass from the law, till all be fulfilled. %%% Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira. 40MAT005.019 Whosoever therefore shall break one of these least commandments, and shall teach men so, he shall be called the least in the kingdom of heaven: but whosoever shall do and teach them, the same shall be called great in the kingdom of heaven. %%% Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu: naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. 40MAT005.020 For I say unto you, That except your righteousness shall exceed the righteousness of the scribes and Pharisees, ye shall in no case enter into the kingdom of heaven. %%% Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butuukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. 40MAT005.021 Ye have heard that it was said by them of old time, Thou shalt not kill; and whosoever shall kill shall be in danger of the judgment: %%% Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti Tottanga naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango: 40MAT005.022 But I say unto you, That whosoever is angry with his brother without a cause shall be in danger of the judgment: and whosoever shall say to his brother, Raca, shall be in danger of the council: but whosoever shall say, Thou fool, shall be in danger of hell fire. %%% naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, alizza omusango; naye anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwamu lukiiko, naye anaagambanga nti Musirusiru, asaanidde okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro. 40MAT005.023 Therefore if thou bring thy gift to the altar, and there rememberest that thy brother hath ought against thee; %%% Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'oyima eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, 40MAT005.024 Leave there thy gift before the altar, and go thy way; first be reconciled to thy brother, and then come and offer thy gift. %%% leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo. 40MAT005.025 Agree with thine adversary quickly, whiles thou art in the way with him; lest at any time the adversary deliver thee to the judge, and the judge deliver thee to the officer, and thou be cast into prison. %%% Yagalananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera. 40MAT005.026 Verily I say unto thee, Thou shalt by no means come out thence, till thou hast paid the uttermost farthing. %%% Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukomekkereza n'eppeesa erimu. 40MAT005.027 Ye have heard that it was said by them of old time, Thou shalt not commit adultery: %%% Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga: 40MAT005.028 But I say unto you, That whosoever looketh on a woman to lust after her hath committed adultery with her already in his heart. %%% naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe. 40MAT005.029 And if thy right eye offend thee, pluck it out, and cast it from thee: for it is profitable for thee that one of thy members should perish, and not that thy whole body should be cast into hell. %%% Oba ng'eriiso lyo erya ddyo likwesittaza liggyeemu, lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena. 40MAT005.030 And if thy right hand offend thee, cut it off, and cast it from thee: for it is profitable for thee that one of thy members should perish, and not that thy whole body should be cast into hell. %%% Era oba ng’omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, gusuule wala kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena. 40MAT005.031 It hath been said, Whosoever shall put away his wife, let him give her a writing of divorcement: %%% Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba: 40MAT005.032 But I say unto you, That whosoever shall put away his wife, saving for the cause of fornication, causeth her to commit adultery: and whosoever shall marry her that is divorced committeth adultery. %%% naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze. 40MAT005.033 Again, ye have heard that it hath been said by them of old time, Thou shalt not forswear thyself, but shalt perform unto the Lord thine oaths: %%% Mwawulira ate ab'edda bwe baagambibwa nti Tolayiranga bya bulimba, naye otuukiririzanga Mukama by'olayira: 40MAT005.034 But I say unto you, Swear not at all; neither by heaven; for it is God's throne: %%% naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda; 40MAT005.035 Nor by the earth; for it is his footstool: neither by Jerusalem; for it is the city of the great King. %%% newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekako ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu. 40MAT005.036 Neither shalt thou swear by thy head, because thou canst not make one hair white or black. %%% So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba oluddugavu. 40MAT005.037 But let your communication be, Yea, yea; Nay, nay: for whatsoever is more than these cometh of evil. %%% Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo: naye ebisinga ebyo biva mu mubi. 40MAT005.038 Ye have heard that it hath been said, An eye for an eye, and a tooth for a tooth: %%% Mwawulira bwe baagambibwa nti Eriiso ligattwenga eriiso, n’erinnyo ligattwenga erinnyo: 40MAT005.039 But I say unto you, That ye resist not evil: but whosoever shall smite thee on thy right cheek, turn to him the other also. %%% naye nange mbagamba nti Temuziyizanga mubi: naye omuntu bw'akukubanga oluba olwa ddyo, omukyukiranga n'olwa kkono. 40MAT005.040 And if any man will sue thee at the law, and take away thy coat, let him have thy cloak also. %%% Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibawo kyo. 40MAT005.041 And whosoever shall compel thee to go a mile, go with him twain. %%% Omuntu bw’akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri. 40MAT005.042 Give to him that asketh thee, and from him that would borrow of thee turn not thou away. %%% Akusabanga omuwanga; omuntu bw’ayagalanga okumuwola, tomukubanga mabega. 40MAT005.043 Ye have heard that it hath been said, Thou shalt love thy neighbour, and hate thine enemy. %%% Mwawulira bwe baagambibwa nti Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo: 40MAT005.044 But I say unto you, Love your enemies, bless them that curse you, do good to them that hate you, and pray for them which despitefully use you, and persecute you; %%% naye nange mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya; 40MAT005.045 That ye may be the children of your Father which is in heaven: for he maketh his sun to rise on the evil and on the good, and sendeth rain on the just and on the unjust. %%% mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu. 40MAT005.046 For if ye love them which love you, what reward have ye? do not even the publicans the same? %%% Kubanga bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? n'abawooza tebakola bwe batyo? 40MAT005.047 And if ye salute your brethren only, what do ye more than others? do not even the publicans so? %%% Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? N’ab'amawanga tebakola bwe batyo? 40MAT005.048 Be ye therefore perfect, even as your Father which is in heaven is perfect. %%% Kale mmwe mubeerenga abatuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu. 40MAT006.001 Take heed that ye do not your alms before men, to be seen of them: otherwise ye have no reward of your Father which is in heaven. %%% Mwekuume obutakoleranga bigambo byammwe eby'obutuukirivu mu maaso g'abantu, era babalabe: kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temuuweebwenga mpeera eri Kitammwe ali mu ggulu. 40MAT006.002 Therefore when thou doest thine alms, do not sound a trumpet before thee, as the hypocrites do in the synagogues and in the streets, that they may have glory of men. Verily I say unto you, They have their reward. %%% Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, nga bannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe. 40MAT006.003 But when thou doest alms, let not thy left hand know what thy right hand doeth: %%% Naye ggwe, bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo bye gukola: 40MAT006.004 That thine alms may be in secret: and thy Father which seeth in secret himself shall reward thee openly. %%% okugaba kwo kubeerenga kwa kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera. 40MAT006.005 And when thou prayest, thou shalt not be as the hypocrites are: for they love to pray standing in the synagogues and in the corners of the streets, that they may be seen of men. Verily I say unto you, They have their reward. %%% Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi: kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe. 40MAT006.006 But thou, when thou prayest, enter into thy closet, and when thou hast shut thy door, pray to thy Father which is in secret; and thy Father which seeth in secret shall reward thee openly. %%% Naye ggwe bw'osabanga yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera. 40MAT006.007 But when ye pray, use not vain repetitions, as the heathen do: for they think that they shall be heard for their much speaking. %%% Nammwe bwe musabanga, temuddiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola: kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi. 40MAT006.008 Be not ye therefore like unto them: for your Father knoweth what things ye have need of, before ye ask him. %%% Kale, temufaanana nga bo: kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba. 40MAT006.009 After this manner therefore pray ye: Our Father which art in heaven, Hallowed be thy name. %%% Kale, musabenga bwe muti, nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. 40MAT006.010 Thy kingdom come. Thy will be done in earth, as it is in heaven. %%% Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. 40MAT006.011 Give us this day our daily bread. %%% Otuwe leero emmere yaffe eya leero. 40MAT006.012 And forgive us our debts, as we forgive our debtors. %%% Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako. 40MAT006.013 And lead us not into temptation, but deliver us from evil: For thine is the kingdom, and the power, and the glory, for ever. Amen. %%% Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi. Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina. 40MAT006.014 For if ye forgive men their trespasses, your heavenly Father will also forgive you: %%% Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe. 40MAT006.015 But if ye forgive not men their trespasses, neither will your Father forgive your trespasses. %%% Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe. 40MAT006.016 Moreover when ye fast, be not, as the hypocrites, of a sad countenance: for they disfigure their faces, that they may appear unto men to fast. Verily I say unto you, They have their reward. %%% Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku: kubanga beeyonoona amaaso gaabwe, era abantu babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe. 40MAT006.017 But thou, when thou fastest, anoint thine head, and wash thy face; %%% Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso; 40MAT006.018 That thou appear not unto men to fast, but unto thy Father which is in secret: and thy Father, which seeth in secret, shall reward thee openly. %%% abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera. 40MAT006.019 Lay not up for yourselves treasures upon earth, where moth and rust doth corrupt, and where thieves break through and steal: %%% Temweterekeranga bintu ku nsi kwe byonoonekera n’ennyenje n'obutalagge, n’ababbi kwe basimira ne babba: 40MAT006.020 But lay up for yourselves treasures in heaven, where neither moth nor rust doth corrupt, and where thieves do not break through nor steal: %%% naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira; so gye batabbira: 40MAT006.021 For where your treasure is, there will your heart be also. %%% kubanga ebintu byo we bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera. 40MAT006.022 The light of the body is the eye: if therefore thine eye be single, thy whole body shall be full of light. %%% Ettabaaza y'omubiri lye liiso: eriiso lyo bwe liraba awamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala. 40MAT006.023 But if thine eye be evil, thy whole body shall be full of darkness. If therefore the light that is in thee be darkness, how great is that darkness! %%% Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'ekizikiza. Kale okutangaala okuli munda mu ggwe bwe kubeera ekizikiza, ekizikiza ekyo kyenkana wa obunene! 40MAT006.024 No man can serve two masters: for either he will hate the one, and love the other; or else he will hold to the one, and despise the other. Ye cannot serve God and mammon. %%% Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri: kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona. 40MAT006.025 Therefore I say unto you, Take no thought for your life, what ye shall eat, or what ye shall drink; nor yet for your body, what ye shall put on. Is not the life more than meat, and the body than raiment? %%% Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki; mulinywa ki; newakubaade omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebukira mmere; n’omubiri tegukira byakwambala? 40MAT006.026 Behold the fowls of the air: for they sow not, neither do they reap, nor gather into barns; yet your heavenly Father feedeth them. Are ye not much better than they? %%% Mulabe ennyonyi ez'omu bbanga, nga tezisiga, so tezikungula, tezikuŋŋaanyiza mu mawanika; era Kitammwe ali mu ggulu aziriisa ezo. Mmwe temusinga nnyo ezo? 40MAT006.027 Which of you by taking thought can add one cubit unto his stature? %%% Ani mu mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okweyongerako ku bukulu bwe n'akaseera akamu? 40MAT006.028 And why take ye thought for raiment? Consider the lilies of the field, how they grow; they toil not, neither do they spin: %%% Naye ekibeeraliikiriza ki eby'okwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale, bwe gamera; tegakola mulimu, so tegalanga lugoye: 40MAT006.029 And yet I say unto you, That even Solomon in all his glory was not arrayed like one of these. %%% naye mbagamba nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go. 40MAT006.030 Wherefore, if God so clothe the grass of the field, which to day is, and to morrow is cast into the oven, shall he not much more clothe you, O ye of little faith? %%% Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale, oguliwo leero, ne jjo bagusuula mu kyoto, talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? 40MAT006.031 Therefore take no thought, saying, What shall we eat? or, What shall we drink? or, Wherewithal shall we be clothed? %%% Kale temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulyambala ki? 40MAT006.032 (For after all these things do the Gentiles seek:) for your heavenly Father knoweth that ye have need of all these things. %%% Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna. 40MAT006.033 But seek ye first the kingdom of God, and his righteousness; and all these things shall be added unto you. %%% Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako. 40MAT006.034 Take therefore no thought for the morrow: for the morrow shall take thought for the things of itself. Sufficient unto the day is the evil thereof. %%% Kale temweraliikiriranga bya jjo: kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala. 40MAT007.001 Judge not, that ye be not judged. %%% Temusalanga musango, muleme okusalirwa. 40MAT007.002 For with what judgment ye judge, ye shall be judged: and with what measure ye mete, it shall be measured to you again. %%% Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe. 40MAT007.003 And why beholdest thou the mote that is in thy brother's eye, but considerest not the beam that is in thine own eye? %%% Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye notofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? 40MAT007.004 Or how wilt thou say to thy brother, Let me pull out the mote out of thine eye; and, behold, a beam is in thine own eye? %%% Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe? 40MAT007.005 Thou hypocrite, first cast out the beam out of thine own eye; and then shalt thou see clearly to cast out the mote out of thy brother's eye. %%% Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo. 40MAT007.006 Give not that which is holy unto the dogs, neither cast ye your pearls before swine, lest they trample them under their feet, and turn again and rend you. %%% Temuwanga mbwa ekintu ekitukuvu, so temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma. 40MAT007.007 Ask, and it shall be given you; seek, and ye shall find; knock, and it shall be opened unto you: %%% Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo: 40MAT007.008 For every one that asketh receiveth; and he that seeketh findeth; and to him that knocketh it shall be opened. %%% kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; eyeeyanjula aliggulirwawo. 40MAT007.009 Or what man is there of you, whom if his son ask bread, will he give him a stone? %%% Oba muntu ki mu mmwe, omwana we bw'alimusaba emmere, alimuwa ejjinja; 40MAT007.010 Or if he ask a fish, will he give him a serpent? %%% oba bw'alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota? 40MAT007.011 If ye then, being evil, know how to give good gifts unto your children, how much more shall your Father which is in heaven give good things to them that ask him? %%% Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abamusaba? 40MAT007.012 Therefore all things whatsoever ye would that men should do to you, do ye even so to them: for this is the law and the prophets. %%% Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi. 40MAT007.013 Enter ye in at the strait gate: for wide is the gate, and broad is the way, that leadeth to destruction, and many there be which go in thereat: %%% Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n'abo abayitamu bangi. 40MAT007.014 Because strait is the gate, and narrow is the way, which leadeth unto life, and few there be that find it. %%% Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n'abo abaliraba batono. 40MAT007.015 Beware of false prophets, which come to you in sheep's clothing, but inwardly they are ravening wolves. %%% Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye munda gy'emisege egisikula. 40MAT007.016 Ye shall know them by their fruits. Do men gather grapes of thorns, or figs of thistles? %%% Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango? 40MAT007.017 Even so every good tree bringeth forth good fruit; but a corrupt tree bringeth forth evil fruit. %%% Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi. 40MAT007.018 A good tree cannot bring forth evil fruit, neither can a corrupt tree bring forth good fruit. %%% Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. 40MAT007.019 Every tree that bringeth not forth good fruit is hewn down, and cast into the fire. %%% Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro. 40MAT007.020 Wherefore by their fruits ye shall know them. %%% Kale mulibategeerera ku bibala byabwe. 40MAT007.021 Not every one that saith unto me, Lord, Lord, shall enter into the kingdom of heaven; but he that doeth the will of my Father which is in heaven. %%% Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala. 40MAT007.022 Many will say to me in that day, Lord, Lord, have we not prophesied in thy name? and in thy name have cast out devils? and in thy name done many wonderful works? %%% Bangi abaliŋŋmba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? 40MAT007.023 And then will I profess unto them, I never knew you: depart from me, ye that work iniquity. %%% Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby'obujeemu. 40MAT007.024 Therefore whosoever heareth these sayings of mine, and doeth them, I will liken him unto a wise man, which built his house upon a rock: %%% Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: 40MAT007.025 And the rain descended, and the floods came, and the winds blew, and beat upon that house; and it fell not: for it was founded upon a rock. %%% enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta; ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi. 40MAT007.026 And every one that heareth these sayings of mine, and doeth them not, shall be likened unto a foolish man, which built his house upon the sand: %%% Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu: 40MAT007.027 And the rain descended, and the floods came, and the winds blew, and beat upon that house; and it fell: and great was the fall of it. %%% enkuba n'etonnya; mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta; ne bikuba enju eyo; n'egwa: n'okugwa kwayo kwali kunene. 40MAT007.028 And it came to pass, when Jesus had ended these sayings, the people were astonished at his doctrine: %%% Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe: 40MAT007.029 For he taught them as one having authority, and not as the scribes. %%% kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi baabwe. 40MAT008.001 When he was come down from the mountain, great multitudes followed him. %%% Bwe yava ku lusozi, ebibiina bingi ne bimugoberera. 40MAT008.002 And, behold, there came a leper and worshipped him, saying, Lord, if thou wilt, thou canst make me clean. %%% Kale, laba, omugenge n'amusemberera n'amusinza, n'agamba nti Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa. 40MAT008.003 And Jesus put forth his hand, and touched him, saying, I will; be thou clean. And immediately his leprosy was cleansed. %%% N'agolola omukono, n'amukwatako, ng'agamba nti Njagala; longooka. Amangu ago ebigenge bye ne birongooka. 40MAT008.004 And Jesus saith unto him, See thou tell no man; but go thy way, shew thyself to the priest, and offer the gift that Moses commanded, for a testimony unto them. %%% Yesu n'amugamba nti Laba tobuulirako muntu; naye ddayo weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagira, kibeere omujulirwa gye bali. 40MAT008.005 And when Jesus was entered into Capernaum, there came unto him a centurion, beseeching him, %%% Bwe yayingira mu Kaperunawumu, omwami w'ekitongole Omuruumi n'ajja gy'ali, n'amwegayirira, 40MAT008.006 And saying, Lord, my servant lieth at home sick of the palsy, grievously tormented. %%% ng'agamba nti Mukama wange, mulenzi wange agalamidde mu nnyumba akoozimbye, abonaabona kitalo. 40MAT008.007 And Jesus saith unto him, I will come and heal him. %%% N'amugamba nti Najja ne mmuwonya. 40MAT008.008 The centurion answered and said, Lord, I am not worthy that thou shouldest come under my roof: but speak the word only, and my servant shall be healed. %%% Omwami w'ekitongole Omuruumi n'addamu n'agamba nti Mukama wange, sisaanira ggwe okuyingira wansi w'akasolya kange: naye yogera kigambo bugambo, mulenzi wange anaawona. 40MAT008.009 For I am a man under authority, having soldiers under me: and I say to this man, Go, and he goeth; and to another, Come, and he cometh; and to my servant, Do this, and he doeth it. %%% Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina baserikale be ntwala: bwe ŋŋamba oyo nti Genda, agenda: n'omulala nti Jjangu, ajja; n'omuddu wange nti Kola oti, bw'akola. 40MAT008.010 When Jesus heard it, he marvelled, and said to them that followed, Verily I say unto you, I have not found so great faith, no, not in Israel. %%% Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri. 40MAT008.011 And I say unto you, That many shall come from the east and west, and shall sit down with Abraham, and Isaac, and Jacob, in the kingdom of heaven. %%% Nange mbagamba nti Bangi abaliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abalituula awamu ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, mu bwakabaka obw'omu ggulu: 40MAT008.012 But the children of the kingdom shall be cast out into outer darkness: there shall be weeping and gnashing of teeth. %%% naye abaana b'obwakabaka baligoberwa mu kizikiza eky'ebweru: ye eriba okukaaba n’okuluma obujiji. 40MAT008.013 And Jesus said unto the centurion, Go thy way; and as thou hast believed, so be it done unto thee. And his servant was healed in the selfsame hour. %%% Yesu n'agamba omwami w'ekitongole Omuruumi nti Kale genda; nga bw'okkirizza, kibeere gy'oli bwe kityo. Omulenzi n'awonera mu kiseera ekyo. 40MAT008.014 And when Jesus was come into Peter's house, he saw his wife's mother laid, and sick of a fever. %%% Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyina mukazi we ng'agalamidde alwadde omusujja. 40MAT008.015 And he touched her hand, and the fever left her: and she arose, and ministered unto them. %%% N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako; n'agolokoka, n'amuweereza. 40MAT008.016 When the even was come, they brought unto him many that were possessed with devils: and he cast out the spirits with his word, and healed all that were sick: %%% Obudde bwali buwungedde; ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni: n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde: 40MAT008.017 That it might be fulfilled which was spoken by Esaias the prophet, saying, Himself took our infirmities, and bare our sicknesses. %%% ekigambo kituukirire ekyayogerwa nnabbi Isaaya, ng'agamba nti Ye yennyini yatwala obunafu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe. 40MAT008.018 Now when Jesus saw great multitudes about him, he gave commandment to depart unto the other side. %%% Awo Yesu bwe yalaba ebibiina bingi nga bimwetoolodde, n'alagira nti Tuwunguke tugende emitala w'eri. 40MAT008.019 And a certain scribe came, and said unto him, Master, I will follow thee whithersoever thou goest. %%% Omuwandiisi omu n'ajja; n'amugamba nti Omuyigiriza, nnaayitanga naawe buli gy'onoogendanga yonna. 40MAT008.020 And Jesus saith unto him, The foxes have holes, and the birds of the air have nests; but the Son of man hath not where to lay his head. %%% Yesu n'amugamba nti Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe. 40MAT008.021 And another of his disciples said unto him, Lord, suffer me first to go and bury my father. %%% Omuyigirizwa we omulala n'amugamba nti Mukama wange, sooka ondeke ŋŋende nziike kitange. 40MAT008.022 But Jesus said unto him, Follow me; and let the dead bury their dead. %%% Naye Yesu n'amugamba nti Yita nange; leka abafu baziike abafu baabwe. 40MAT008.023 And when he was entered into a ship, his disciples followed him. %%% N'asaabala, abayigirizwa ne bagenda naye. 40MAT008.024 And, behold, there arose a great tempest in the sea, insomuch that the ship was covered with the waves: but he was asleep. %%% Omuyaga mungi ne gujja mu nnyanja, amayengo ne gayiika mu lyato: naye yali yeebase. 40MAT008.025 And his disciples came to him, and awoke him, saying, Lord, save us: we perish. %%% Ne bajja gy'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, Mukama waffe, tulokole; tufa. 40MAT008.026 And he saith unto them, Why are ye fearful, O ye of little faith? Then he arose, and rebuked the winds and the sea; and there was a great calm. %%% N'abagamba nti Kiki ekibatiisa, abalina okukkiriza okutono? N'alyoka agolokoka, n'akoma ku mpewo n'ennyanja; n'eteeka nnyo. 40MAT008.027 But the men marvelled, saying, What manner of man is this, that even the winds and the sea obey him! %%% Abantu ne beewuunya, nga bagamba nti Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira? 40MAT008.028 And when he was come to the other side into the country of the Gergesenes, there met him two possessed with devils, coming out of the tombs, exceeding fierce, so that no man might pass by that way. %%% Naye bwe yatuuka emitala w'eri mu nsi y'Abagadaleni, ne bamusisinkana abantu babiri abaaliko dayimooni, nga bava mu ntaana, bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza okuyita mu kkubo eryo. 40MAT008.029 And, behold, they cried out, saying, What have we to do with thee, Jesus, thou Son of God? art thou come hither to torment us before the time? %%% Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti otuvunaana ki, Omwana wa Katonda? ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka? 40MAT008.030 And there was a good way off from them an herd of many swine feeding. %%% Waaliwo walako ne we baali ekisibo ky'embizzi nnyingi nga zirya. 40MAT008.031 So the devils besought him, saying, If thou cast us out, suffer us to go away into the herd of swine. %%% Dayimooni ne gimwegayirira ne gigamba nti Bw'onootugoba, tusindike mu kisibo ky'embizzi. 40MAT008.032 And he said unto them, Go. And when they were come out, they went into the herd of swine: and, behold, the whole herd of swine ran violently down a steep place into the sea, and perished in the waters. %%% N'agigamba nti Mugende. Ne gibavaako, ne gigenda mu mbizzi : kale, laba, ekisibo kyonna ne kifubutuka ne kiserengetera ku bbangabanga mu nnyanja, ne zifiira mu mazzi. 40MAT008.033 And they that kept them fled, and went their ways into the city, and told every thing, and what was befallen to the possessed of the devils. %%% N'abaali bazirunda ne badduka, ne bagenda mu kibuga, ne bababuulira byonna n'ebigambo by'ababaddeko dayimooni. 40MAT008.034 And, behold, the whole city came out to meet Jesus: and when they saw him, they besought him that he would depart out of their coasts. %%% Laba, ekyalo kyonna ne kijja okusisinkana Yesu: bwe baamulaba, ne bamwegayirira okuva mu nsalo zaabwe. 40MAT009.001 And he entered into a ship, and passed over, and came into his own city. %%% N'asaabala, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe. 40MAT009.002 And, behold, they brought to him a man sick of the palsy, lying on a bed: and Jesus seeing their faith said unto the sick of the palsy; Son, be of good cheer; thy sins be forgiven thee. %%% Awo ne bamuleetera omulwadde akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda: naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo akoozimbye nti Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikuggiddwako. 40MAT009.003 And, behold, certain of the scribes said within themselves, This man blasphemeth. %%% Kale, laba, abawandiisi abalala ne boogera mu myoyo nti Ono avvoola Katonda. 40MAT009.004 And Jesus knowing their thoughts said, Wherefore think ye evil in your hearts? %%% Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe? 40MAT009.005 For whether is easier, to say, Thy sins be forgiven thee; or to say, Arise, and walk? %%% Kubanga ekyangu kiruwa okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako, oba okugamba nti Golokoka otambule? 40MAT009.006 But that ye may know that the Son of man hath power on earth to forgive sins, (then saith he to the sick of the palsy,) Arise, take up thy bed, and go unto thine house. %%% Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi n'agamba oyo akoozimbye nti Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo. 40MAT009.007 And he arose, and departed to his house. %%% N'agolokoka, n'agenda ewuwe. 40MAT009.008 But when the multitudes saw it, they marvelled, and glorified God, which had given such power unto men. %%% Naye ebibiina bwe byalaba ne bitya, ne bigulumiza Katonda, eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo. 40MAT009.009 And as Jesus passed forth from thence, he saw a man, named Matthew, sitting at the receipt of custom: and he saith unto him, Follow me. And he arose, and followed him. %%% Yesu bwe yavaayo n'alaba omuntu, ayitibwa Matayo, ng'atudde mu ggwoolezo: n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka, n'ayita naye. 40MAT009.010 And it came to pass, as Jesus sat at meat in the house, behold, many publicans and sinners came and sat down with him and his disciples. %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'atudde mu nju ng'alya, laba, ne wajja abawooza bangi, n'abantu ababi bangi, ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be. 40MAT009.011 And when the Pharisees saw it, they said unto his disciples, Why eateth your Master with publicans and sinners? %%% Abafalisaayo bwe baalaba, ne bagamba abayigirizwa be nti Omuyigiriza wammwe kiki ekimuliisa n'abawooza n'abantu ababi? 40MAT009.012 But when Jesus heard that, he said unto them, They that be whole need not a physician, but they that are sick. %%% Naye bwe yawulira, n'agamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. 40MAT009.013 But go ye and learn what that meaneth, I will have mercy, and not sacrifice: for I am not come to call the righteous, but sinners to repentance. %%% Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti Njagala kisa, so si ssaddaaka kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi. 40MAT009.014 Then came to him the disciples of John, saying, Why do we and the Pharisees fast oft, but thy disciples fast not? %%% Ne walyoka wajja w'ali abayigirizwa ba Yokaana ne bagamba nti Kiki ekitusiibya ffe n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo tebasiiba? 40MAT009.015 And Jesus said unto them, Can the children of the bridechamber mourn, as long as the bridegroom is with them? but the days will come, when the bridegroom shall be taken from them, and then shall they fast. %%% Yesu n'abagamba nti Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala awasizza omugole ng'akyali nabo? naye ennaku zigenda okujja awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba. 40MAT009.016 No man putteth a piece of new cloth unto an old garment, for that which is put in to fill it up taketh from the garment, and the rent is made worse. %%% Tewali muntu atunga kiwero ekiggya mu kyambalo ekikadde; kubanga ekyo ekitungibwamu kiyuza ekyambalo, n'ekituli kyeyongera okugaziwa. 40MAT009.017 Neither do men put new wine into old bottles: else the bottles break, and the wine runneth out, and the bottles perish: but they put new wine into new bottles, and both are preserved. %%% So tebafuka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana: naye bafuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama. 40MAT009.018 While he spake these things unto them, behold, there came a certain ruler, and worshipped him, saying, My daughter is even now dead: but come and lay thy hand upon her, and she shall live. %%% Bwe yali ng'aky’abagamba ebigambo ebyo, ne wajja omwami omu, n'amusinza n'agamba nti Muwala wange kaakano afudde: naye jjangu omuteekeko omukono, anaalamuka. 40MAT009.019 And Jesus arose, and followed him, and so did his disciples. %%% Yesu n'agolokoka n'amugoberera, n'abayigirizwa be. 40MAT009.020 And, behold, a woman, which was diseased with an issue of blood twelve years, came behind him, and touched the hem of his garment: %%% Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, n'ajja ennyuma we, n'akoma ku lukugiro lw'ekyambalo kye: 40MAT009.021 For she said within herself, If I may but touch his garment, I shall be whole. %%% kubanga yayogera mu mwoyo gwe nti Bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona. 40MAT009.022 But Jesus turned him about, and when he saw her, he said, Daughter, be of good comfort; thy faith hath made thee whole. And the woman was made whole from that hour. %%% Naye Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti Mwana wange, guma omwoyo; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Omukazi n'awona okuva mu kiseera ekyo. 40MAT009.023 And when Jesus came into the ruler's house, and saw the minstrels and the people making a noise, %%% Yesu bwe yatuuka mu nju y'omwami oyo, n'alaba abafuuwa endere, n'ekibiina nga bakuba ebiwoobe, 40MAT009.024 He said unto them, Give place: for the maid is not dead, but sleepeth. And they laughed him to scorn. %%% n'agamba nti Muveewo: kubanga omuwala tafudde, yeebase bwe basi. Ne bamusekerera nnyo. 40MAT009.025 But when the people were put forth, he went in, and took her by the hand, and the maid arose. %%% Naye ekibiina bwe kyamala okugobebwawo, n'ayingira, n'amukwata ku mukono; omuwala n'agolokoka. 40MAT009.026 And the fame hereof went abroad into all that land. %%% Ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi eri yonna. 40MAT009.027 And when Jesus departed thence, two blind men followed him, crying, and saying, Thou son of David, have mercy on us. %%% Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi. 40MAT009.028 And when he was come into the house, the blind men came to him: and Jesus saith unto them, Believe ye that I am able to do this? They said unto him, Yea, Lord. %%% Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali: Yesu n'abagamba nti Mukkirizza nga nnyinza okukola kino? ne bamugamba nti Weewaawo, Mukama waffe. 40MAT009.029 Then touched he their eyes, saying, According to your faith be it unto you. %%% N'alyoka akoma ku maaso gaabwe ng'agamba nti Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo. 40MAT009.030 And their eyes were opened; and Jesus straitly charged them, saying, See that no man know it. %%% Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti Mulabe tewaba muntu amanya. 40MAT009.031 But they, when they were departed, spread abroad his fame in all that country. %%% Naye ne bafuluma, ne babunya ebigambo bye mu nsi eri yonna. 40MAT009.032 As they went out, behold, they brought to him a dumb man possessed with a devil. %%% Awo bwe baali bafuluma ne bamuleetera kasiru, ng'aliko dayimooni. 40MAT009.033 And when the devil was cast out, the dumb spake: and the multitudes marvelled, saying, It was never so seen in Israel. %%% N'agoba dayimooni, kasiru n'ayogera; ebibiina ne byewuunya, ne bigamba nti Edda n'edda tewalabikanga bwe kiti mu Isiraeri. 40MAT009.034 But the Pharisees said, He casteth out devils through the prince of the devils. %%% Naye Abafalisaayo ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa dayimooni. 40MAT009.035 And Jesus went about all the cities and villages, teaching in their synagogues, and preaching the gospel of the kingdom, and healing every sickness and every disease among the people. %%% Yesu n'ayitayita mu bibuga byonna, n'embuga zonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna. 40MAT009.036 But when he saw the multitudes, he was moved with compassion on them, because they fainted, and were scattered abroad, as sheep having no shepherd. %%% Naye bwe yalaba ebibiina, n'abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng'endiga ezitalina musumba. 40MAT009.037 Then saith he unto his disciples, The harvest truly is plenteous, but the labourers are few; %%% N'alyoka agamba abayigirizwa be nti Eby'okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. 40MAT009.038 Pray ye therefore the Lord of the harvest, that he will send forth labourers into his harvest. %%% Kale musabe Omwami w'eby'okukungula, asindike abakozi mu by'okukungula bye. 40MAT010.001 And when he had called unto him his twelve disciples, he gave them power against unclean spirits, to cast them out, and to heal all manner of sickness and all manner of disease. %%% N'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna. 40MAT010.002 Now the names of the twelve apostles are these; The first, Simon, who is called Peter, and Andrew his brother; James the son of Zebedee, and John his brother; %%% Abatume abo ekkumi n'ababiri, amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we; 40MAT010.003 Philip, and Bartholomew; Thomas, and Matthew the publican; James the son of Alphaeus, and Lebbaeus, whose surname was Thaddaeus; %%% Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo; 40MAT010.004 Simon the Canaanite, and Judas Iscariot, who also betrayed him. %%% Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. 40MAT010.005 These twelve Jesus sent forth, and commanded them, saying, Go not into the way of the Gentiles, and into any city of the Samaritans enter ye not: %%% Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri n'ababuulirira, ng'agamba nti Temugendanga mu makubo g'ab'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya; 40MAT010.006 But go rather to the lost sheep of the house of Israel. %%% naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri. 40MAT010.007 And as ye go, preach, saying, The kingdom of heaven is at hand. %%% Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka. 40MAT010.008 Heal the sick, cleanse the lepers, raise the dead, cast out devils: freely ye have received, freely give. %%% Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa. 40MAT010.009 Provide neither gold, nor silver, nor brass in your purses, %%% Temubeeranga na zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe; 40MAT010.010 Nor scrip for your journey, neither two coats, neither shoes, nor yet staves: for the workman is worthy of his meat. %%% so n'ensawo etambula, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo: kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa emmere ye. 40MAT010.011 And into whatsoever city or town ye shall enter, enquire who in it is worthy; and there abide till ye go thence. %%% Naye buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw'ali asaana; musulanga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 40MAT010.012 And when ye come into an house, salute it. %%% Bwe munaayingiranga mu nju, mugiramusenga. 40MAT010.013 And if the house be worthy, let your peace come upon it: but if it be not worthy, let your peace return to you. %%% Enju bw'esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw'etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli. 40MAT010.014 And whosoever shall not receive you, nor hear your words, when ye depart out of that house or city, shake off the dust of your feet. %%% Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe. 40MAT010.015 Verily I say unto you, It shall be more tolerable for the land of Sodom and Gomorrha in the day of judgment, than for that city. %%% Ddala mbagamba nti ensi ya Sodoma ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira ekibuga ekyo. 40MAT010.016 Behold, I send you forth as sheep in the midst of wolves: be ye therefore wise as serpents, and harmless as doves. %%% Laba, nze mbatuma ng'endiga wakati mu misege: kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa. 40MAT010.017 But beware of men: for they will deliver you up to the councils, and they will scourge you in their synagogues; %%% Naye mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu; 40MAT010.018 And ye shall be brought before governors and kings for my sake, for a testimony against them and the Gentiles. %%% era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n'ab'amawanga. 40MAT010.019 But when they deliver you up, take no thought how or what ye shall speak: for it shall be given you in that same hour what ye shall speak. %%% Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera. 40MAT010.020 For it is not ye that speak, but the Spirit of your Father which speaketh in you. %%% Kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe. 40MAT010.021 And the brother shall deliver up the brother to death, and the father the child: and the children shall rise up against their parents, and cause them to be put to death. %%% Ow'oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n’abaana banaajeemeranga ababazaala, n’okubassa. 40MAT010.022 And ye shall be hated of all men for my name's sake: but he that endureth to the end shall be saved. %%% Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka. 40MAT010.023 But when they persecute you in this city, flee ye into another: for verily I say unto you, Ye shall not have gone over the cities of Israel, till the Son of man be come. %%% Bwe babagobanga mu kibuga ekyo, muddukira mu ky'okubiri: kubanga ddala mbagamba nti Temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alijja. 40MAT010.024 The disciple is not above his master, nor the servant above his lord. %%% Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, so n'omuddu tasinga mukama we. 40MAT010.025 It is enough for the disciple that he be as his master, and the servant as his lord. If they have called the master of the house Beelzebub, how much more shall they call them of his household? %%% Kimumala omuyigirizwa okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye? 40MAT010.026 Fear them not therefore: for there is nothing covered, that shall not be revealed; and hid, that shall not be known. %%% Kale temubatyanga: kubanga tewali kigambo ekyabikibwa, ekitalibikkulwa, newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa. 40MAT010.027 What I tell you in darkness, that speak ye in light: and what ye hear in the ear, that preach ye upon the housetops. %%% Kye mbagambira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana: kye muwulira mu kutu, mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba. 40MAT010.028 And fear not them which kill the body, but are not able to kill the soul: but rather fear him which is able to destroy both soul and body in hell. %%% So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n'omubiri mu Ggeyeena. 40MAT010.029 Are not two sparrows sold for a farthing? and one of them shall not fall on the ground without your Father. %%% Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: 40MAT010.030 But the very hairs of your head are all numbered. %%% era n'enviiri zammwe ez'oku mutwe zaabalibwa zonna. 40MAT010.031 Fear ye not therefore, ye are of more value than many sparrows. %%% Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi. 40MAT010.032 Whosoever therefore shall confess me before men, him will I confess also before my Father which is in heaven. %%% Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g'abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 40MAT010.033 But whosoever shall deny me before men, him will I also deny before my Father which is in heaven. %%% Naye yenna alinneegaanira mu maaso g'abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 40MAT010.034 Think not that I am come to send peace on earth: I came not to send peace, but a sword. %%% Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi: sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. 40MAT010.035 For I am come to set a man at variance against his father, and the daughter against her mother, and the daughter in law against her mother in law. %%% Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nyazaala we; 40MAT010.036 And a man's foes shall be they of his own household. %%% abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. 40MAT010.037 He that loveth father or mother more than me is not worthy of me: and he that loveth son or daughter more than me is not worthy of me. %%% Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira. 40MAT010.038 And he that taketh not his cross, and followeth after me, is not worthy of me. %%% N'oyo atakwata musalaba gwe n'agoberera ennyuma wange, tansaanira. 40MAT010.039 He that findeth his life shall lose it: and he that loseth his life for my sake shall find it. %%% Alaba obulamu bwe alibubuza; abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba. 40MAT010.040 He that receiveth you receiveth me, and he that receiveth me receiveth him that sent me. %%% Akkiriza mmwe ng'akkirizza nze, akkiriza nze ng'akkirizza eyantuma. 40MAT010.041 He that receiveth a prophet in the name of a prophet shall receive a prophet's reward; and he that receiveth a righteous man in the name of a righteous man shall receive a righteous man's reward. %%% Akkiriza nnabbi mu linnya lya nnabbi aliweebwa empeera ya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu mu linnya ly'omutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu. 40MAT010.042 And whosoever shall give to drink unto one of these little ones a cup of cold water only in the name of a disciple, verily I say unto you, he shall in no wise lose his reward. %%% Era buli amuwa okunywa omu ku abo abatono ekikompe ky'amazzi amannyogovu kyokka, mu linnya ly'omuyigirizwa, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono. 40MAT011.001 And it came to pass, when Jesus had made an end of commanding his twelve disciples, he departed thence to teach and to preach in their cities. %%% Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe. 40MAT011.002 Now when John had heard in the prison the works of Christ, he sent two of his disciples, %%% Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera ebikolwa bya Kristo; n'atuma abayigirizwa be, 40MAT011.003 And said unto him, Art thou he that should come, or do we look for another? %%% okumugamba nti Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala? 40MAT011.004 Jesus answered and said unto them, Go and shew John again those things which ye do hear and see: %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Muddeeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba: 40MAT011.005 The blind receive their sight, and the lame walk, the lepers are cleansed, and the deaf hear, the dead 0are raised up, and the poor have the gospel preached to them. %%% abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b’amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri. 40MAT011.006 And blessed is he, whosoever shall not be offended in me. %%% Naye yenna alina omukisa atalinneesittalako. 40MAT011.007 And as they departed, Jesus began to say unto the multitudes concerning John, What went ye out into the wilderness to see? A reed shaken with the wind? %%% Nabo bwe baagenda, Yesu n'asooka okwogera n’ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye nwagenderera mu ddungu okutunuulira? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo? 40MAT011.008 But what went ye out for to see? A man clothed in soft raiment? behold, they that wear soft clothing are in kings' houses. %%% Naye kiki kye mwagenderera okulaba? omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba, abambala ezinekaaneka baba mu nnyunba za bakabaka. 40MAT011.009 But what went ye out for to see? A prophet? yea, I say unto you, and more than a prophet. %%% Naye kiki ye mwagenderera? okulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi. 40MAT011.010 For this is he, of whom it is written, Behold, I send my messenger before thy face, which shall prepare thy way before thee. %%% Oyo ye yawandiikwako nti Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo. 40MAT011.011 Verily I say unto you, Among them that are born of women there hath not risen a greater than John the Baptist: notwithstanding he that is least in the kingdom of heaven is greater than he. %%% Ddala mbagamba nti Tevanga nu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye. 40MAT011.012 And from the days of John the Baptist until now the kingdom of heaven suffereth violence, and the violent take it by force. %%% Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okuuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza babunyaga lwa maanyi. 40MAT011.013 For all the prophets and the law prophesied until John. %%% Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana. 40MAT011.014 And if ye will receive it, this is Elias, which was for to come. %%% Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja. 40MAT011.015 He that hath ears to hear, let him hear. %%% Alina amatu ag'okuwulira, awulire. 40MAT011.016 But whereunto shall I liken this generation? It is like unto children sitting in the markets, and calling unto their fellows, %%% Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe, 40MAT011.017 And saying, We have piped unto you, and ye have not danced; we have mourned unto you, and ye have not lamented. %%% nga bagamba nti Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba. 40MAT011.018 For John came neither eating nor drinking, and they say, He hath a devil. %%% Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni. 40MAT011.019 The Son of man came eating and drinking, and they say, Behold a man gluttonous, and a winebibber, a friend of publicans and sinners. But wisdom is justified of her children. %%% Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! Era amagezi gaweebwa obuuukirivu olw'ebikolwa byago. 40MAT011.020 Then began he to upbraid the cities wherein most of his mighty works were done, because they repented not: %%% N'asookera awo okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amaanyi bye ebingi, kubanga tebyenenya. 40MAT011.021 Woe unto thee, Chorazin! woe unto thee, Bethsaida! for if the mighty works, which were done in you, had been done in Tyre and Sidon, they would have repented long ago in sackcloth and ashes. %%% Zirikusanga ggwe Kolaziini! zirikusanga ggwe Besusayida! kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu. 40MAT011.022 But I say unto you, It shall be more tolerable for Tyre and Sidon at the day of judgment, than for you. %%% Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe. 40MAT011.023 And thou, Capernaum, which art exalted unto heaven, shalt be brought down to hell: for if the mighty works, which have been done in thee, had been done in Sodom, it would have remained until this day. %%% Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? olikka e Magombe: kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano. 40MAT011.024 But I say unto you, That it shall be more tolerable for the land of Sodom in the day of judgment, than for thee. %%% Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe. 40MAT011.025 At that time Jesus answered and said, I thank thee, O Father, Lord of heaven and earth, because thou hast hid these things from the wise and prudent, and hast revealed them unto babes. %%% Mu biro ebyo Yesu yaddamu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakabakaba n'obibikkulira abaana abato: 40MAT011.026 Even so, Father: for so it seemed good in thy sight. %%% weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go. 40MAT011.027 All things are delivered unto me of my Father: and no man knoweth the Son, but the Father; neither knoweth any man the Father, save the Son, and he to whomsoever the Son will reveal him. %%% Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira. 40MAT011.028 Come unto me, all ye that labour and are heavy laden, and I will give you rest. %%% Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza. 40MAT011.029 Take my yoke upon you, and learn of me; for I am meek and lowly in heart: and ye shall find rest unto your souls. %%% Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe. 40MAT011.030 For my yoke is easy, and my burden is light. %%% Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu. 40MAT012.001 At that time Jesus went on the sabbath day through the corn; and his disciples were an hungred, and began to pluck the ears of corn, and to eat. %%% Awo mu biro ebyo Yesu n'ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku ssabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya. 40MAT012.002 But when the Pharisees saw it, they said unto him, Behold, thy disciples do that which is not lawful to do upon the sabbath day. %%% Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo okukolera ku ssabbiiti. 40MAT012.003 But he said unto them, Have ye not read what David did, when he was an hungred, and they that were with him; %%% Naye n'abagamba nti Temusomanga Dawudi bwe yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo; 40MAT012.004 How he entered into the house of God, and did eat the shewbread, which was not lawful for him to eat, neither for them which were with him, but only for the priests? %%% bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy’omuzizo ye okugirya newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka? 40MAT012.005 Or have ye not read in the law, how that on the sabbath days the priests in the temple profane the sabbath, and are blameless? %%% Nantiki temusomanga mu mateeka, bakabona mu yeekaalu ku ssabbiiti bwe baasobya ssabbiiti, so tebazza musango? 40MAT012.006 But I say unto you, That in this place is one greater than the temple. %%% Naye mbagamba nti ali wano asinga yeekaalu obukulu. 40MAT012.007 But if ye had known what this meaneth, I will have mercy, and not sacrifice, ye would not have condemned the guiltless. %%% Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so si ssaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango. 40MAT012.008 For the Son of man is Lord even of the sabbath day. %%% Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti. 40MAT012.009 And when he was departed thence, he went into their synagogue: %%% N'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe: 40MAT012.010 And, behold, there was a man which had his hand withered. And they asked him, saying, Is it lawful to heal on the sabbath days? that they might accuse him. %%% era, laba, mwalimu omu eyalina omukono ogukaze. Ne bamubuuza, nga bagamba nti Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti? era bamuwawaabire. 40MAT012.011 And he said unto them, What man shall there be among you, that shall have one sheep, and if it fall into a pit on the sabbath day, will he not lay hold on it, and lift it out? %%% N'abagamba nti Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata atagiggyamu? 40MAT012.012 How much then is a man better than a sheep? Wherefore it is lawful to do well on the sabbath days. %%% Omuntu tasinga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti. 40MAT012.013 Then saith he to the man, Stretch forth thine hand. And he stretched it forth; and it was restored whole, like as the other. %%% N'alyoka agamba omuntu oyo nti Golola omukono gwo. N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogw'okubiri. 40MAT012.014 Then the Pharisees went out, and held a council against him, how they might destroy him. %%% Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza. 40MAT012.015 But when Jesus knew it, he withdrew himself from thence: and great multitudes followed him, and he healed them all; %%% Yesu bwe yategeera n'avaayo: abantu bangi ne bagenda naye; n'awonya bonna, 40MAT012.016 And charged them that they should not make him known: %%% n'abakomako baleme okumwatiikiriza: 40MAT012.017 That it might be fulfilled which was spoken by Esaias the prophet, saying, %%% kituukirire ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti 40MAT012.018 Behold my servant, whom I have chosen; my beloved, in whom my soul is well pleased: I will put my spirit upon him, and he shall shew judgment to the Gentiles. %%% Laba mulenzi wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, ansanyusa emmeeme yange: Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga omusango. 40MAT012.019 He shall not strive, nor cry; neither shall any man hear his voice in the streets. %%% Taliyomba, so talireekaana; So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo. 40MAT012.020 A bruised reed shall he not break, and smoking flax shall he not quench, till he send forth judgment unto victory. %%% Olumuli olwatifu talirumenya, So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, Okutuusa lw'alisindika omusango okuwangula. 40MAT012.021 And in his name shall the Gentiles trust. %%% N'erinnya lye amawanga galirisuubira. 40MAT012.022 Then was brought unto him one possessed with a devil, blind, and dumb: and he healed him, insomuch that the blind and dumb both spake and saw. %%% Awo ne bamuleetera omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa: n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera n'alaba. 40MAT012.023 And all the people were amazed, and said, Is not this the son of David? %%% Ebibiina ne bisamaalirira byonna, ne byogera nti Ono ye mwana wa Dawudi? 40MAT012.024 But when the Pharisees heard it, they said, This fellow doth not cast out devils, but by Beelzebub the prince of the devils. %%% Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni. 40MAT012.025 And Jesus knew their thoughts, and said unto them, Every kingdom divided against itself is brought to desolation; and every city or house divided against itself shall not stand: %%% Bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti Buli bwakabaka bwe bwawukana bwokka na bwokka buzika; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka terirwawo: 40MAT012.026 And if Satan cast out Satan, he is divided against himself; how shall then his kingdom stand? %%% ne Setaani bw'agoba Setaani ayawukana yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulirwawo butya? 40MAT012.027 And if I by Beelzebub cast out devils, by whom do your children cast them out? therefore they shall be your judges. %%% Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kale abo be balibasalira omusango. 40MAT012.028 But if I cast out devils by the Spirit of God, then the kingdom of God is come unto you. %%% Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. 40MAT012.029 Or else how can one enter into a strong man's house, and spoil his goods, except he first bind the strong man? and then he will spoil his house. %%% Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? n'alyoka anyaga enju ye. 40MAT012.030 He that is not with me is against me; and he that gathereth not with me scattereth abroad. %%% Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 40MAT012.031 Wherefore I say unto you, All manner of sin and blasphemy shall be forgiven unto men: but the blasphemy against the Holy Ghost shall not be forgiven unto men. %%% Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika. 40MAT012.032 And whosoever speaketh a word against the Son of man, it shall be forgiven him: but whosoever speaketh against the Holy Ghost, it shall not be forgiven him, neither in this world, neither in the world to come. %%% Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja. 40MAT012.033 Either make the tree good, and his fruit good; or else make the tree corrupt, and his fruit corrupt: for the tree is known by his fruit. %%% Oba mufuule omuti omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo. 40MAT012.034 O generation of vipers, how can ye, being evil, speak good things? for out of the abundance of the heart the mouth speaketh. %%% Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera. 40MAT012.035 A good man out of the good treasure of the heart bringeth forth good things: and an evil man out of the evil treasure bringeth forth evil things. %%% Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi: n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi. 40MAT012.036 But I say unto you, That every idle word that men shall speak, they shall give account thereof in the day of judgment. %%% Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango. 40MAT012.037 For by thy words thou shalt be justified, and by thy words thou shalt be condemned. %%% Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinza omusango. 40MAT012.038 Then certain of the scribes and of the Pharisees answered, saying, Master, we would see a sign from thee. %%% Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti Omuyigiriza, twagala otulage akabonero tukalabe. 40MAT012.039 But he answered and said unto them, An evil and adulterous generation seeketh after a sign; and there shall no sign be given to it, but the sign of the prophet Jonas: %%% Naye n'addamu n'abagamba nti Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero: so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona: 40MAT012.040 For as Jonas was three days and three nights in the whale's belly; so shall the Son of man be three days and three nights in the heart of the earth. %%% kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka. 40MAT012.041 The men of Nineveh shall rise in judgment with this generation, and shall condemn it: because they repented at the preaching of Jonas; and, behold, a greater than Jonas is here. %%% Abantu ab'e Nnineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinza omusango: kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano. 40MAT012.042 The queen of the south shall rise up in the judgment with this generation, and shall condemn it: for she came from the uttermost parts of the earth to hear the wisdom of Solomon; and, behold, a greater than Solomon is here. %%% Kabaka omukazi ow'omu bukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinza omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano. 40MAT012.043 When the unclean spirit is gone out of a man, he walketh through dry places, seeking rest, and findeth none. %%% Naye dayimooni omubi bw'ava mu muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa. 40MAT012.044 Then he saith, I will return into my house from whence I came out; and when he is come, he findeth it empty, swept, and garnished. %%% Kale agamba nti Naddayo mu nnyumba yange mwe nnava; bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, ng'erongoosebbwa. 40MAT012.045 Then goeth he, and taketh with himself seven other spirits more wicked than himself, and they enter in and dwell there: and the last state of that man is worse than the first. Even so shall it be also unto this wicked generation. %%% Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo: n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri ab'emirembe gino emibi. 40MAT012.046 While he yet talked to the people, behold, his mother and his brethren stood without, desiring to speak with him. %%% Bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde bweru, nga baagala kwogera naye. 40MAT012.047 Then one said unto him, Behold, thy mother and thy brethren stand without, desiring to speak with thee. %%% Omuntu n'amugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde bweru, baagala kwogera naawe. 40MAT012.048 But he answered and said unto him that told him, Who is my mother? and who are my brethren? %%% Naye n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti Ani mmange? be baani baganda bange? 40MAT012.049 And he stretched forth his hand toward his disciples, and said, Behold my mother and my brethren! %%% N'agolola omukono eri abayigirizwa be, n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange! 40MAT012.050 For whosoever shall do the will of my Father which is in heaven, the same is my brother, and sister, and mother. %%% Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange. 40MAT013.001 The same day went Jesus out of the house, and sat by the sea side. %%% Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nju, n'atuula ku mabbali g'ennyanja. 40MAT013.002 And great multitudes were gathered together unto him, so that he went into a ship, and sat; and the whole multitude stood on the shore. %%% Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku ttale. 40MAT013.003 And he spake many things unto them in parables, saying, Behold, a sower went forth to sow; %%% N'ayogera nabo bingi mu ngero, ng'agamba nti Laba, omusizi yafuluma okusiga; 40MAT013.004 And when he sowed, some seeds fell by the way side, and the fowls came and devoured them up: %%% bwe yali ng'asiga, ensigo endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya: 40MAT013.005 Some fell upon stony places, where they had not much earth: and forthwith they sprung up, because they had no deepness of earth: %%% endala ne zigwa awali enjazi, awatali ttaka lingi amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu: 40MAT013.006 And when the sun was up, they were scorched; and because they had no root, they withered away. %%% enjuba bwe yavaayo, ne ziwotookerera kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. 40MAT013.007 And some fell among thorns; and the thorns sprung up, and choked them: %%% Endala ne zigwa ku maggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa: 40MAT013.008 But other fell into good ground, and brought forth fruit, some an hundredfold, some sixtyfold, some thirtyfold. %%% endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi, endala nkaaga, endala makumi asatu 40MAT013.009 Who hath ears to hear, let him hear. %%% Alina amatu, awulire. 40MAT013.010 And the disciples came, and said unto him, Why speakest thou unto them in parables? %%% Abayigirizwa ne bajja ne bamugamba nti Kiki ekikwogeza nabo mu ngero? 40MAT013.011 He answered and said unto them, Because it is given unto you to know the mysteries of the kingdom of heaven, but to them it is not given. %%% N'addamu n'abagamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu naye bo tebaweereddwa. 40MAT013.012 For whosoever hath, to him shall be given, and he shall have more abundance: but whosoever hath not, from him shall be taken away even that he hath. %%% Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo: naye buli atalina aliggibwako ne ky'ali nakyo. 40MAT013.013 Therefore speak I to them in parables: because they seeing see not; and hearing they hear not, neither do they understand. %%% Kyenva njogera nabo mu ngero kubanga bwe balaba tebalaba, bwe bawulira, tebawulira, so tebategeera. 40MAT013.014 And in them is fulfilled the prophecy of Esaias, which saith, By hearing ye shall hear, and shall not understand; and seeing ye shall see, and shall not perceive: %%% Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera; Muliraba bulabi, naye temulyetegereza: 40MAT013.015 For this people's heart is waxed gross, and their ears are dull of hearing, and their eyes they have closed; lest at any time they should see with their eyes and hear with their ears, and should understand with their heart, and should be converted, and I should heal them. %%% Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe gawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima, N'okukyuka, Ne mbawonya. 40MAT013.016 But blessed are your eyes, for they see: and your ears, for they hear. %%% Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira. 40MAT013.017 For verily I say unto you, That many prophets and righteous men have desired to see those things which ye see, and have not seen them; and to hear those things which ye hear, and have not heard them. %%% Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'abantu abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira. 40MAT013.018 Hear ye therefore the parable of the sower. %%% Kale mmwe muwulire olugero lw'omusizi. 40MAT013.019 When any one heareth the word of the kingdom, and understandeth it not, then cometh the wicked one, and catcheth away that which was sown in his heart. This is he which received seed by the way side. %%% Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu nutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo. 40MAT013.020 But he that received the seed into stony places, the same is he that heareth the word, and anon with joy receiveth it; %%% N’oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira kigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu; 40MAT013.021 Yet hath he not root in himself, but dureth for a while: for when tribulation or persecution ariseth because of the word, by and by he is offended. %%% naye talina mmizi munda mu ye, naye, alwawo katono; bwe wabaawo ennaku n’okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala. 40MAT013.022 He also that received seed among the thorns is he that heareth the word; and the care of this world, and the deceitfulness of riches, choke the word, and he becometh unfruitful. %%% N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira kw'ensi, n'obulimba bw'obugagga bizisa ekigambo, era tabala. 40MAT013.023 But he that received seed into the good ground is he that heareth the word, and understandeth it; which also beareth fruit, and bringeth forth, some an hundredfold, some sixty, some thirty. %%% N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo ddala abala ddala ebibala, omulala aleeta kikumi, omulala nkaaga, omulala makumi asatu. 40MAT013.024 Another parable put he forth unto them, saying, The kingdom of heaven is likened unto a man which sowed good seed in his field: %%% Awo n'abaleetera olugero olulala n'ayogera nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye: 40MAT013.025 But while men slept, his enemy came and sowed tares among the wheat, and went his way. %%% naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda. 40MAT013.026 But when the blade was sprung up, and brought forth fruit, then appeared the tares also. %%% Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n'erabika n'eŋŋaano ey'omu nsiko. 40MAT013.027 So the servants of the householder came and said unto him, Sir, didst not thou sow good seed in thy field? from whence then hath it tares? %%% Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey'omu nsiko? 40MAT013.028 He said unto them, An enemy hath done this. The servants said unto him, Wilt thou then that we go and gather them up? %%% N'abagamba nti Omulabe ye yakola atyo. Abaddu ne bamugamba nti Kale oyagala tugende tugikoolemu? 40MAT013.029 But he said, Nay; lest while ye gather up the tares, ye root up also the wheat with them. %%% Naye n'agamba nti Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini. 40MAT013.030 Let both grow together until the harvest: and in the time of harvest I will say to the reapers, Gather ye together first the tares, and bind them in bundles to burn them: but gather the wheat into my barn. %%% Muleke bikule byombi bituuse amakungula: mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe: naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange. 40MAT013.031 Another parable put he forth unto them, saying, The kingdom of heaven is like to a grain of mustard seed, which a man took, and sowed in his field: %%% N'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye: 40MAT013.032 Which indeed is the least of all seeds: but when it is grown, it is the greatest among herbs, and becometh a tree, so that the birds of the air come and lodge in the branches thereof. %%% nako nga ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kaakula, ne kaba kanene okusinga omuddo gwonna, ne kaba omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga nga zijja, nga zibeera ku matabi gaagwo. 40MAT013.033 Another parable spake he unto them; The kingdom of heaven is like unto leaven, which a woman took, and hid in three measures of meal, till the whole was leavened. %%% N'abagerera olugero olulala nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna. 40MAT013.034 All these things spake Jesus unto the multitude in parables; and without a parable spake he not unto them: %%% Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo: 40MAT013.035 That it might be fulfilled which was spoken by the prophet, saying, I will open my mouth in parables; I will utter things which have been kept secret from the foundation of the world. %%% kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti Ndyasamya akamwa kange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi. 40MAT013.036 Then Jesus sent the multitude away, and went into the house: and his disciples came unto him, saying, Declare unto us the parable of the tares of the field. %%% Awo n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju: abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omu nsiko eyali mu nnimiro. 40MAT013.037 He answered and said unto them, He that soweth the good seed is the Son of man; %%% N'addamu n'agamba nti Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'omuntu; 40MAT013.038 The field is the world; the good seed are the children of the kingdom; but the tares are the children of the wicked one; %%% ennimiro ye nsi; ensigo ennungi, abo be baana b'obwakabaka; n'eŋŋaano ey'omu nsiko be baana b'omubi; 40MAT013.039 The enemy that sowed them is the devil; the harvest is the end of the world; and the reapers are the angels. %%% omulabe eyagisiga ye Setaani: amakungula ye nkomerero y'ensi; n'abakunguzi be bamalayika. 40MAT013.040 As therefore the tares are gathered and burned in the fire; so shall it be in the end of this world. %%% Kale ng'eŋŋaano ey'omu nsiko bw'ekuŋŋaanyizibwa n'eyokebwa mu muliro; bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. 40MAT013.041 The Son of man shall send forth his angels, and they shall gather out of his kingdom all things that offend, and them which do iniquity; %%% Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebisittaza, n'abo abakola obubi, 40MAT013.042 And shall cast them into a furnace of fire: there shall be wailing and gnashing of teeth. %%% balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji. 40MAT013.043 Then shall the righteous shine forth as the sun in the kingdom of their Father. Who hath ears to hear, let him hear. %%% Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire. 40MAT013.044 Again, the kingdom of heaven is like unto treasure hid in a field; the which when a man hath found, he hideth, and for joy thereof goeth and selleth all that he hath, and buyeth that field. %%% Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu n'akiraba, n'akikweka; n'olw'essanyu lye n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo. 40MAT013.045 Again, the kingdom of heaven is like unto a merchant man, seeking goodly pearls: %%% Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu omutunzi anoonya eruulu ennungi: 40MAT013.046 Who, when he had found one pearl of great price, went and sold all that he had, and bought it. %%% bwe yalaba eruulu emu ey'omuwendo omungi, n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agigula. 40MAT013.047 Again, the kingdom of heaven is like unto a net, that was cast into the sea, and gathered of every kind: %%% Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebya buli ngeri: 40MAT013.048 Which, when it was full, they drew to shore, and sat down, and gathered the good into vessels, but cast the bad away. %%% bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu nkanga, ebibi ne babisuula. 40MAT013.049 So shall it be at the end of the world: the angels shall come forth, and sever the wicked from among the just, %%% Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi: bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu, 40MAT013.050 And shall cast them into the furnace of fire: there shall be wailing and gnashing of teeth. %%% balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji. 40MAT013.051 Jesus saith unto them, Have ye understood all these things? They say unto him, Yea, Lord. %%% Mubitegedde ebigambo bino byonna? Ne bamugamba nti Weewaawo. 40MAT013.052 Then said he unto them, Therefore every scribe which is instructed unto the kingdom of heaven is like unto a man that is an householder, which bringeth forth out of his treasure things new and old. %%% N'abagamba nti Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde. 40MAT013.053 And it came to pass, that when Jesus had finished these parables, he departed thence. %%% Awo olwatuuka Yesu bwe yamala engero zino, n'avaayo. 40MAT013.054 And when he was come into his own country, he taught them in their synagogue, insomuch that they were astonished, and said, Whence hath this man this wisdom, and these mighty works? %%% Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino? 40MAT013.055 Is not this the carpenter's son? is not his mother called Mary? and his brethren, James, and Joses, and Simon, and Judas? %%% Ono si ye mwana w'omubazzi? nnyina si gwe bayita Malyamu? ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda? 40MAT013.056 And his sisters, are they not all with us? Whence then hath this man all these things? %%% Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale ono yaggya wa ebigambo bino byonna? 40MAT013.057 And they were offended in him. But Jesus said unto them, A prophet is not without honour, save in his own country, and in his own house. %%% Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe. 40MAT013.058 And he did not many mighty works there because of their unbelief. %%% So teyakolayo bya magero bingi olw'obutakkiriza bwabwe. 40MAT014.001 At that time Herod the tetrarch heard of the fame of Jesus, %%% Mu biro biri Kerode ow'essaza n'awulira ettutumu lya Yesu, 40MAT014.002 And said unto his servants, This is John the Baptist; he is risen from the dead; and therefore mighty works do shew forth themselves in him. %%% n'agamba abaddu be nti Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye. 40MAT014.003 For Herod had laid hold on John, and bound him, and put him in prison for Herodias' sake, his brother Philip's wife. %%% Kubanga Kerode yali akutte Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa Firipo muganda we. 40MAT014.004 For John said unto him, It is not lawful for thee to have her. %%% Kubanga Yokaana yamugamba nti Kya muzizo ggwe okubeera naye. 40MAT014.005 And when he would have put him to death, he feared the multitude, because they counted him as a prophet. %%% Bwe yali ayagala okumutta, n'atya abantu, kubanga baamulowooza nga ye nnabbi. 40MAT014.006 But when Herod's birthday was kept, the daughter of Herodias danced before them, and pleased Herod. %%% Bwe lwatuuka olw'okujjukira amazaalibwa ga Kerode, omuwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode. 40MAT014.007 Whereupon he promised with an oath to give her whatsoever she would ask. %%% Awo n'alayira n'asuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba. 40MAT014.008 And she, being before instructed of her mother, said, Give me here John Baptist's head in a charger. %%% Naye, bwe yaweererwa nnyina, n'agamba nti Mpeera wano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 40MAT014.009 And the king was sorry: nevertheless for the oath's sake, and them which sat with him at meat, he commanded it to be given her. %%% Kabaka n'alumwa; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa; 40MAT014.010 And he sent, and beheaded John in the prison. %%% n'atuma, n'atemako Yokaana omutwe mu kkomera. 40MAT014.011 And his head was brought in a charger, and given to the damsel: and she brought it to her mother. %%% Ne baleeta omutwe gwe mu lutiba, ne baguwa omuwala: n'agutwalira nnyina. 40MAT014.012 And his disciples came, and took up the body, and buried it, and went and told Jesus. %%% Abayigirizwa be ne bajja, ne basitula omulambo, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu. 40MAT014.013 When Jesus heard of it, he departed thence by ship into a desert place apart: and when the people had heard thereof, they followed him on foot out of the cities. %%% Awo, Yesu bwe yawulira, n'aviirayo mu lyato, n'agenda awali eddungu kyama: ebibiina bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu. 40MAT014.014 And Jesus went forth, and saw a great multitude, and was moved with compassion toward them, and he healed their sick. %%% N'avaayo, n'alaba ekibiina kinene, n'abasaasira, n'awonya abalwadde baabwe. 40MAT014.015 And when it was evening, his disciples came to him, saying, This is a desert place, and the time is now past; send the multitude away, that they may go into the villages, and buy themselves victuals. %%% Bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bagamba nti Wano ddungu, obudde buyise nnyo; siibula abantu, bagende mu bibuga, beegulire emmere. 40MAT014.016 But Jesus said unto them, They need not depart; give ye them to eat. %%% Naye Yesu n'abagamba nti Tewali kibazzisaayo; mmwe mubawe ebyokulya. 40MAT014.017 And they say unto him, We have here but five loaves, and two fishes. %%% Ne bamugamba nti Tetulina kintu wano wabula emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri. 40MAT014.018 He said, Bring them hither to me. %%% N'agamba nti Mubindeetere wano. 40MAT014.019 And he commanded the multitude to sit down on the grass, and took the five loaves, and the two fishes, and looking up to heaven, he blessed, and brake, and gave the loaves to his disciples, and the disciples to the multitude. %%% N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atwala emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina. 40MAT014.020 And they did all eat, and were filled: and they took up of the fragments that remained twelve baskets full. %%% Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebibbo kkumi na bibiri ebyajjula. 40MAT014.021 And they that had eaten were about five thousand men, beside women and children. %%% N'abo abaalya baali abasajja ng'enkumi ttaano, abakazi n'abaana obutabassaako: 40MAT014.022 And straightway Jesus constrained his disciples to get into a ship, and to go before him unto the other side, while he sent the multitudes away. %%% Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa okusaabala, bamukulembere okugenda emitala w'eri, amale okusiibula ebibiina. 40MAT014.023 And when he had sent the multitudes away, he went up into a mountain apart to pray: and when the evening was come, he was there alone. %%% Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba: obudde bwe bwawungeera, yaliyo bw'omu. 40MAT014.024 But the ship was now in the midst of the sea, tossed with waves: for the wind was contrary. %%% Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwabafuluma mu maaso. 40MAT014.025 And in the fourth watch of the night Jesus went unto them, walking on the sea. %%% Awo ekiro mu kisisimuka eky'okuna n'ajja gye bali, ng'atambula ku nnyanja. 40MAT014.026 And when the disciples saw him walking on the sea, they were troubled, saying, It is a spirit; and they cried out for fear. %%% Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beeraliikirira, ne bagamba nti Dayimooni; ne beekanga nga batya. 40MAT014.027 But straightway Jesus spake unto them, saying, Be of good cheer; it is I; be not afraid. %%% Amangu ago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti Muddeemu omwoyo: nze nzuuno; temutya. 40MAT014.028 And Peter answered him and said, Lord, if it be thou, bid me come unto thee on the water. %%% Peetero n'amuddamu n'agamba nti Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira njije gy'oli ku mazzi. 40MAT014.029 And he said, Come. And when Peter was come down out of the ship, he walked on the water, to go to Jesus. %%% N'agamba nti Jjangu. Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu. 40MAT014.030 But when he saw the wind boisterous, he was afraid; and beginning to sink, he cried, saying, Lord, save me. %%% Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya: n'atanula okusaanawo, n'akaaba, n'agamba nti Mukama wange, ndokola. 40MAT014.031 And immediately Jesus stretched forth his hand, and caught him, and said unto him, O thou of little faith, wherefore didst thou doubt? %%% Amangu ago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza? 40MAT014.032 And when they were come into the ship, the wind ceased. %%% Bwe baalinnya mu lyato, omuyaga ne guggwaawo. 40MAT014.033 Then they that were in the ship came and worshipped him, saying, Of a truth thou art the Son of God. %%% N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti Mazima oli Mwana wa Katonda. 40MAT014.034 And when they were gone over, they came into the land of Gennesaret. %%% Bwe baamala okuwunguka, ne batuuka ku lukalu olw'e Genesaleeti. 40MAT014.035 And when the men of that place had knowledge of him, they sent out into all that country round about, and brought unto him all that were diseased; %%% Abantu baayo bwe baamumanya, ne batuma mu nsi eyo yonna eriraanyeewo, ne bamuleetera bonna abalwadde; 40MAT014.036 And besought him that they might only touch the hem of his garment: and as many as touched were made perfectly whole. %%% ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaakomako ne bawonyezebwa ddala. 40MAT015.001 Then came to Jesus scribes and Pharisees, which were of Jerusalem, saying, %%% Awo ne bajja eri Yesu Abafalisaayo n'abawandiisi abaava mu Yerusaalemi, nga bagamba nti 40MAT015.002 Why do thy disciples transgress the tradition of the elders? for they wash not their hands when they eat bread. %%% Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesa obulombolombo bwe twaweebwa abakadde? kubanga tebanaaba mu ngalo nga balya emmere. 40MAT015.003 But he answered and said unto them, Why do ye also transgress the commandment of God by your tradition? %%% N'addamu n'abagamba nti Nammwe kiki ekiboonoonyesa etteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweebwa? 40MAT015.004 For God commanded, saying, Honour thy father and mother: and, He that curseth father or mother, let him die the death. %%% Kubanga Katonda yagamba nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: nate nu Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi. 40MAT015.005 But ye say, Whosoever shall say to his father or his mother, It is a gift, by whatsoever thou mightest be profited by me; %%% Naye mmwe mugamba nti Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda, 40MAT015.006 And honour not his father or his mother, he shall be free. Thus have ye made the commandment of God of none effect by your tradition. %%% alireka okussaamu ekitiibwa kitaawe. Mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. 40MAT015.007 Ye hypocrites, well did Esaias prophesy of you, saying, %%% Mmwe bannanfuusi, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe, ng'agamba nti 40MAT015.008 This people draweth nigh unto me with their mouth, and honoureth me with their lips; but their heart is far from me. %%% Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; Naye omutima gwabwe gundi wala. 40MAT015.009 But in vain they do worship me, teaching for doctrines the commandments of men. %%% Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata. 40MAT015.010 And he called the multitude, and said unto them, Hear, and understand: %%% N'ayita ekibiina, n'abagamba nti Muwulire, mutegeere: 40MAT015.011 Not that which goeth into the mouth defileth a man; but that which cometh out of the mouth, this defileth a man. %%% ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu. 40MAT015.012 Then came his disciples, and said unto him, Knowest thou that the Pharisees were offended, after they heard this saying? %%% Awo abayigirizwa ne bajja, ne bamugamba nti Omanyi Abafalisaayo nga baanyiiga, bwe baawulira ekigambo ekyo? 40MAT015.013 But he answered and said, Every plant, which my heavenly Father hath not planted, shall be rooted up. %%% Naye n'addamu n'agamba nti Buli kisimbe Kitange ow'omu ggulu ky'ataasimba, kirisimbulibwa. 40MAT015.014 Let them alone: they be blind leaders of the blind. And if the blind lead the blind, both shall fall into the ditch. %%% Mubaleke: be basaale abatalaba. Naye omuzibe w'amaaso bw'akulembera muzibe munne bombi baligwa mu bunnya. 40MAT015.015 Then answered Peter and said unto him, Declare unto us this parable. %%% Peetero n'addamu n'amugamba nti Tunnyonnyole olugero olwo. 40MAT015.016 And Jesus said, Are ye also yet without understanding? %%% Naye n'agamba nti Era nammwe temunnaba kuba na magezi. 40MAT015.017 Do not ye yet understand, that whatsoever entereth in at the mouth goeth into the belly, and is cast out into the draught? %%% Temutegeera nti buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, ne kisuulibwa mu kiyigo? 40MAT015.018 But those things which proceed out of the mouth come forth from the heart; and they defile the man. %%% Naye ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu. 40MAT015.019 For out of the heart proceed evil thoughts, murders, adulteries, fornications, thefts, false witness, blasphemies: %%% Kubanga mu mutima mu muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma: 40MAT015.020 These are the things which defile a man: but to eat with unwashen hands defileth not a man. %%% ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu. 40MAT015.021 Then Jesus went thence, and departed into the coasts of Tyre and Sidon. %%% Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni. 40MAT015.022 And, behold, a woman of Canaan came out of the same coasts, and cried unto him, saying, Have mercy on me, O Lord, thou son of David; my daughter is grievously vexed with a devil. %%% Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava ku mbibi eyo, n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Onsaasire Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni. 40MAT015.023 But he answered her not a word. And his disciples came and besought him, saying, Send her away; for she crieth after us. %%% Naye n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti Musiibule; kubanga atuleekaanira emabega. 40MAT015.024 But he answered and said, I am not sent but unto the lost sheep of the house of Israel. %%% Naye n'addamu n'agamba nti Saatumibwa wabula eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri. 40MAT015.025 Then came she and worshipped him, saying, Lord, help me. %%% Naye n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mbeera. 40MAT015.026 But he answered and said, It is not meet to take the children's bread, and to cast it to dogs. %%% N'addamu n'agamba nti Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'okugisuulira obubwa. 40MAT015.027 And she said, Truth, Lord: yet the dogs eat of the crumbs which fall from their masters' table. %%% Naye n'agamba nti Weewaawo, Mukama wange: kubanga n'obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo. 40MAT015.028 Then Jesus answered and said unto her, O woman, great is thy faith: be it unto thee even as thou wilt. And her daughter was made whole from that very hour. %%% Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene: kibeere gy'oli nga bw'oyagala. Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo. 40MAT015.029 And Jesus departed from thence, and came nigh unto the sea of Galilee; and went up into a mountain, and sat down there. %%% Yesu n'avaayo, n'ajja ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo. 40MAT015.030 And great multitudes came unto him, having with them those that were lame, blind, dumb, maimed, and many others, and cast them down at Jesus' feet; and he healed them: %%% Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya: 40MAT015.031 Insomuch that the multitude wondered, when they saw the dumb to speak, the maimed to be whole, the lame to walk, and the blind to see: and they glorified the God of Israel. %%% ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba: ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri. 40MAT015.032 Then Jesus called his disciples unto him, and said, I have compassion on the multitude, because they continue with me now three days, and have nothing to eat: and I will not send them away fasting, lest they faint in the way. %%% Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'agamba nti Nsaasira abantu kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya: n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, wozzi banaazirikira mu kkubo. 40MAT015.033 And his disciples say unto him, Whence should we have so much bread in the wilderness, as to fill so great a multitude? %%% Abayigirizwa ne bamugamba nti Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano? 40MAT015.034 And Jesus saith unto them, How many loaves have ye? And they said, Seven, and a few little fishes. %%% Yesu n'abagamba nti Mulina emigaati emeka? Ne bagamba nti Musanvu, n'ebyennyanja ebitono si bingi. 40MAT015.035 And he commanded the multitude to sit down on the ground. %%% N'alagira ekibiina okutuula wansi; 40MAT015.036 And he took the seven loaves and the fishes, and gave thanks, and brake them, and gave to his disciples, and the disciples to the multitude. %%% n'atoola emigaati musanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'amenyamu n'awa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina. 40MAT015.037 And they did all eat, and were filled: and they took up of the broken meat that was left seven baskets full. %%% Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebisero musanvu ebyajjula. 40MAT015.038 And they that did eat were four thousand men, beside women and children. %%% N'abo abaalya baali abasajja enkumi nnya, abakazi n'abaana obutabassaako. 40MAT015.039 And he sent away the multitude, and took ship, and came into the coasts of Magdala. %%% N'asiibua ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'ajja mu mbibi y'e Magadani. 40MAT016.001 The Pharisees also with the Sadducees came, and tempting desired him that he would shew them a sign from heaven. %%% Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu. 40MAT016.002 He answered and said unto them, When it is evening, ye say, It will be fair weather: for the sky is red. %%% Naye n'addamu n'abagamba nti Bwe buba akawungeezi, mugamba nti Bunaaba bulungi: kubanga eggulu limyuse. 40MAT016.003 And in the morning, It will be foul weather to day: for the sky is red and lowring. O ye hypocrites, ye can discern the face of the sky; but can ye not discern the signs of the times? %%% N'enkya nti Wanaaba omuyaga leero: kubanga eggulu limyuse libindabinda. Mumanyi okwawula eggulu bwe lifaanana; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro? 40MAT016.004 A wicked and adulterous generation seeketh after a sign; and there shall no sign be given unto it, but the sign of the prophet Jonas. And he left them, and departed. %%% Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona. N'abaleka, n'agenda. 40MAT016.005 And when his disciples were come to the other side, they had forgotten to take bread. %%% Abayigirizwa ne bajja emitala w'eri, ne beerabira okutwala emigaati. 40MAT016.006 Then Jesus said unto them, Take heed and beware of the leaven of the Pharisees and of the Sadducees. %%% Yesu n'abagamba nti Mutunuulire mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo. 40MAT016.007 And they reasoned among themselves, saying, It is because we have taken no bread. %%% Ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Kubanga tetuleese migaati. 40MAT016.008 Which when Jesus perceived, he said unto them, O ye of little faith, why reason ye among yourselves, because ye have brought no bread? %%% Yesu n'amanya n'agamba nti Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka kubanga temulina migaati? 40MAT016.009 Do ye not yet understand, neither remember the five loaves of the five thousand, and how many baskets ye took up? %%% Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano eri abo enkumi ettaano, n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya 40MAT016.010 Neither the seven loaves of the four thousand, and how many baskets ye took up? %%% Era emigaati omusanvu eri abo enkumi ennya, n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya? 40MAT016.011 How is it that ye do not understand that I spake it not to you concerning bread, that ye should beware of the leaven of the Pharisees and of the Sadducees? %%% Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambiridde lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo. 40MAT016.012 Then understood they how that he bade them not beware of the leaven of bread, but of the doctrine of the Pharisees and of the Sadducees . %%% Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo. 40MAT016.013 When Jesus came into the coasts of Caesarea Philippi, he asked his disciples, saying, Whom do men say that I the Son of man am? %%% Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya? 40MAT016.014 And they said, Some say that thou art John the Baptist: some, Elias; and others, Jeremias, or one of the prophets. %%% Ne bagamba nti Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya: abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi. 40MAT016.015 He saith unto them, But whom say ye that I am? %%% N'abagamba nti Naye mmwe mumpita mutya? 40MAT016.016 And Simon Peter answered and said, Thou art the Christ, the Son of the living God. %%% Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu. 40MAT016.017 And Jesus answered and said unto him, Blessed art thou, Simon Barjona: for flesh and blood hath not revealed it unto thee, but my Father which is in heaven. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Olina omukisa, Simooni Ba-Yona: kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu. 40MAT016.018 And I say also unto thee, That thou art Peter, and upon this rock I will build my church; and the gates of hell shall not prevail against it. %%% Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza. 40MAT016.019 And I will give unto thee the keys of the kingdom of heaven: and whatsoever thou shalt bind on earth shall be bound in heaven: and whatsoever thou shalt loose on earth shall be loosed in heaven. %%% Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululibwa mu ggulu. 40MAT016.020 Then charged he his disciples that they should tell no man that he was Jesus the Christ. %%% Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo. 40MAT016.021 From that time forth began Jesus to shew unto his disciples, how that he must go unto Jerusalem, and suffer many things of the elders and chief priests and scribes, and be killed, and be raised again the third day. %%% Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa. 40MAT016.022 Then Peter took him, and began to rebuke him, saying, Be it far from thee, Lord: this shall not be unto thee. %%% Peetero n'amutwala, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n'akatono. 40MAT016.023 But he turned, and said unto Peter, Get thee behind me, Satan: thou art an offence unto me: for thou savourest not the things that be of God, but those that be of men. %%% N'akyuka, n'agamba Peetero nti Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu. 40MAT016.024 Then said Jesus unto his disciples, If any man will come after me, let him deny himself, and take up his cross, and follow me. %%% Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Omuntu bw'ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka yeetikke omusalaba gwe, angoberere. 40MAT016.025 For whosoever will save his life shall lose it: and whosoever will lose his life for my sake shall find it. %%% Kubanga buli ayagaIa okulokola obulamu bwe alibubuza: na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba. 40MAT016.026 For what is a man profited, if he shall gain the whole world, and lose his own soul? or what shall a man give in exchange for his soul? %%% Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe? 40MAT016.027 For the Son of man shall come in the glory of his Father with his angels; and then he shall reward every man according to his works. %%% Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola. 40MAT016.028 Verily I say unto you, There be some standing here, which shall not taste of death, till they see the Son of man coming in his kingdom. %%% Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe. 40MAT017.001 And after six days Jesus taketh Peter, James, and John his brother, and bringeth them up into an high mountain apart, %%% Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n'abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka: 40MAT017.002 And was transfigured before them: and his face did shine as the sun, and his raiment was white as the light. %%% n'afuusibwa mu maaso gaabwe: amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omusana. 40MAT017.003 And, behold, there appeared unto them Moses and Elias talking with him. %%% Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye. 40MAT017.004 Then answered Peter, and said unto Jesus, Lord, it is good for us to be here: if thou wilt, let us make here three tabernacles; one for thee, and one for Moses, and one for Elias. %%% Peetero n'addamu n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano: bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu; emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya. 40MAT017.005 While he yet spake, behold, a bright cloud overshadowed them: and behold a voice out of the cloud, which said, This is my beloved Son, in whom I am well pleased; hear ye him. %%% Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire. 40MAT017.006 And when the disciples heard it, they fell on their face, and were sore afraid. %%% Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo. 40MAT017.007 And Jesus came and touched them, and said, Arise, and be not afraid. %%% Yesu n'ajja n'abakomako n'agamba nti Muyimuke, temutya. 40MAT017.008 And when they had lifted up their eyes, they saw no man, save Jesus only. %%% Ne bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu, wabula Yesu yekka. 40MAT017.009 And as they came down from the mountain, Jesus charged them, saying, Tell the vision to no man, until the Son of man be risen again from the dead. %%% Bwe baali nga bakka ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti Temubuulirako muntu bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu. 40MAT017.010 And his disciples asked him, saying, Why then say the scribes that Elias must first come? %%% Abayigirizwa be ne bamubuuza, ne bagamba nti Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja? 40MAT017.011 And Jesus answered and said unto them, Elias truly shall first come, and restore all things. %%% N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna: 40MAT017.012 But I say unto you, That Elias is come already, and they knew him not, but have done unto him whatsoever they listed. Likewise shall also the Son of man suffer of them. %%% naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu alibonyaabonyezebwa bo. 40MAT017.013 Then the disciples understood that he spake unto them of John the Baptist. %%% Awo abayigirizwa ne bategeera nti yayogera nabo ku Yokaana Omubatiza. 40MAT017.014 And when they were come to the multitude, there came to him a certain man, kneeling down to him, and saying, %%% Bwe baatuuka eri ekibiina, omuntu n'ajja gy'ali, n'amufukaamirira, ng'agamba nti 40MAT017.015 Lord, have mercy on my son: for he is lunatick, and sore vexed: for ofttimes he falleth into the fire, and oft into the water. %%% Mukama wange, musaasire omwana wange: kubanga agwa ensimbu, zimubonyaabonya nnyo: kubanga emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi mu mazzi. 40MAT017.016 And I brought him to thy disciples, and they could not cure him. %%% Ne mmuleetera abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya. 40MAT017.017 Then Jesus answered and said, O faithless and perverse generation, how long shall I be with you? how long shall I suffer you? bring him hither to me. %%% Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere wano. 40MAT017.018 And Jesus rebuked the devil; and he departed out of him: and the child was cured from that very hour. %%% Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako: omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo. 40MAT017.019 Then came the disciples to Jesus apart, and said, Why could not we cast him out? %%% Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bagamba nti Kiki ekitulobedde ffe okuyinza okumugoba? 40MAT017.020 And Jesus said unto them, Because of your unbelief: for verily I say unto you, If ye have faith as a grain of mustard seed, ye shall say unto this mountain, Remove hence to yonder place; and it shall remove; and nothing shall be impossible unto you. %%% N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza. 40MAT017.021 Howbeit this kind goeth not out but by prayer and fasting. %%% Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba. 40MAT017.022 And while they abode in Galilee, Jesus said unto them, The Son of man shall be betrayed into the hands of men: %%% Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu; 40MAT017.023 And they shall kill him, and the third day he shall be raised again. And they were exceeding sorry. %%% balimutta, ne ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala nnyo. 40MAT017.024 And when they were come to Capernaum, they that received tribute money came to Peter, and said, Doth not your master pay tribute? %%% Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bagamba nti Mukama wammwe tawa diderakima? 40MAT017.025 He saith, Yes. And when he was come into the house, Jesus prevented him, saying, What thinkest thou, Simon? of whom do the kings of the earth take custom or tribute? of their own children, or of strangers? %%% N'agamba nti Awa. Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza bantu ki? baana baabwe nantiki bannaggwanga? 40MAT017.026 Peter saith unto him, Of strangers. Jesus saith unto him, Then are the children free. %%% N'agamba nti Bannaggwanga. Yesu n'amugamba nti Kale abaana ba ddembe. 40MAT017.027 Notwithstanding, lest we should offend them, go thou to the sea, and cast an hook, and take up the fish that first cometh up; and when thou hast opened his mouth, thou shalt find a piece of money: that take, and give unto them for me and thee. %%% Naye, tuleme okubasittaza, genda ku nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri: otwale eyo, ogibawe ku bwange ne ku bubwo. 40MAT018.001 At the same time came the disciples unto Jesus, saying, Who is the greatest in the kingdom of heaven? %%% Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu? 40MAT018.002 And Jesus called a little child unto him, and set him in the midst of them, %%% N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe, 40MAT018.003 And said, Verily I say unto you, Except ye be converted, and become as little children, ye shall not enter into the kingdom of heaven. %%% n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira 0n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. 40MAT018.004 Whosoever therefore shall humble himself as this little child, the same is greatest in the kingdom of heaven. %%% Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. 40MAT018.005 And whoso shall receive one such little child in my name receiveth me. %%% Na buli alisembeza omwana omuto ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze: 40MAT018.006 But whoso shall offend one of these little ones which believe in me, it were better for him that a millstone were hanged about his neck, and that he were drowned in the depth of the sea. %%% naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja. 40MAT018.007 Woe unto the world because of offences! for it must needs be that offences come; but woe to that man by whom the offence cometh! %%% Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza! 40MAT018.008 Wherefore if thy hand or thy foot offend thee, cut them off, and cast them from thee: it is better for thee to enter into life halt or maimed, rather than having two hands or two feet to be cast into everlasting fire. %%% Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi. 40MAT018.009 And if thine eye offend thee, pluck it out, and cast it from thee: it is better for thee to enter into life with one eye, rather than having two eyes to be cast into hell fire. %%% Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeem ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi. 40MAT018.010 Take heed that ye despise not one of these little ones; for I say unto you, That in heaven their angels do always behold the face of my Father which is in heaven. %%% Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu. 40MAT018.011 For the Son of man is come to save that which was lost. %%% Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula. 40MAT018.012 How think ye? if a man have an hundred sheep, and one of them be gone astray, doth he not leave the ninety and nine, and goeth into the mountains, and seeketh that which is gone astray? %%% Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko? 40MAT018.013 And if so be that he find it, verily I say unto you, he rejoiceth more of that sheep, than of the ninety and nine which went not astray. %%% Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze. 40MAT018.014 Even so it is not the will of your Father which is in heaven, that one of these little ones should perish. %%% Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira. 40MAT018.015 Moreover if thy brother shall trespass against thee, go and tell him his fault between thee and him alone: if he shall hear thee, thou hast gained thy brother. %%% Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira ng'ofunye muganda wo. 40MAT018.016 But if he will not hear thee, then take with thee one or two more, that in the mouth of two or three witnesses every word may be established. %%% Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate. 40MAT018.017 And if he shall neglect to hear them, tell it unto the church: but if he neglect to hear the church, let him be unto thee as an heathen man and a publican. %%% Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza. 40MAT018.018 Verily I say unto you, Whatsoever ye shall bind on earth shall be bound in heaven: and whatsoever ye shall loose on earth shall be loosed in heaven. %%% Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. 40MAT018.019 Again I say unto you, That if two of you shall agree on earth as touching any thing that they shall ask, it shall be done for them of my Father which is in heaven. %%% Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu. 40MAT018.020 For where two or three are gathered together in my name, there am I in the midst of them. %%% Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe. 40MAT018.021 Then came Peter to him, and said, Lord, how oft shall my brother sin against me, and I forgive him? till seven times? %%% Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? kutuusa emirundi musanvu? 40MAT018.022 Jesus saith unto him, I say not unto thee, Until seven times: but, Until seventy times seven. %%% Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu. 40MAT018.023 Therefore is the kingdom of heaven likened unto a certain king, which would take account of his servants. %%% Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo n'abaddu be. 40MAT018.024 And when he had begun to reckon, one was brought unto him, which owed him ten thousand talents. %%% Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta akakumi. 40MAT018.025 But forasmuch as he had not to pay, his lord commanded him to be sold, and his wife, and children, and all that he had, and payment to be made. %%% Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe. 40MAT018.026 The servant therefore fell down, and worshipped him, saying, Lord, have patience with me, and I will pay thee all. %%% Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja npola, nange ndikusasula byonna. 40MAT018.027 Then the lord of that servant was moved with compassion, and loosed him, and forgave him the debt. %%% Mukama w'omuddu oyo n'amuaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja. 40MAT018.028 But the same servant went out, and found one of his fellowservants, which owed him an hundred pence: and he laid hands on him, and took him by the throat, saying, Pay me that thou owest. %%% Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange. 40MAT018.029 And his fellowservant fell down at his feet, and besought him, saying, Have patience with me, and I will pay thee all. %%% Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti Mmanja mpola, nange ndikusasula. 40MAT018.030 And he would not: but went and cast him into prison, till he should pay the debt. %%% N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja. 40MAT018.031 So when his fellowservants saw what was done, they were very sorry, and came and told unto their lord all that was done. %%% Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddeyo. 40MAT018.032 Then his lord, after that he had called him, said unto him, O thou wicked servant, I forgave thee all that debt, because thou desiredst me: %%% Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira: 40MAT018.033 Shouldest not thou also have had compassion on thy fellowservant, even as I had pity on thee? %%% naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe? 40MAT018.034 And his lord was wroth, and delivered him to the tormentors, till he should pay all that was due unto him. %%% Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna. 40MAT018.035 So likewise shall my heavenly Father do also unto you, if ye from your hearts forgive not every one his brother their trespasses. %%% Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we. 40MAT019.001 And it came to pass, that when Jesus had finished these sayings, he departed from Galilee, and came into the coasts of Judaea beyond Jordan; %%% Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, n'ava e Ggaliraaya, n'ajja ku mbibi y'e Buyudaaya emitala wa Yoludaani; 40MAT019.002 And great multitudes followed him; and he healed them there. %%% ebibiina ebinene ne bimugoberera; n'abawonyeza eyo. 40MAT019.003 The Pharisees also came unto him, tempting him, and saying unto him, Is it lawful for a man to put away his wife for every cause? %%% Abafalisaayo ne bajja gy'a1i, ne bamukema, nga bagamba nti Omuntu ayinza okugoba mukazi we okumulanga buli kigambo? 40MAT019.004 And he answered and said unto them, Have ye not read, that he which made them at the beginning 0made them male and female, %%% N'addamu n'agamba nti Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n'omukazi, 40MAT019.005 And said, For this cause shall a man leave father and mother, and shall cleave to his wife: and they twain shall be one flesh? %%% n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu? 40MAT019.006 Wherefore they are no more twain, but one flesh. What therefore God hath joined together, let not man put asunder. %%% obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu. 40MAT019.007 They say unto him, Why did Moses then command to give a writing of divorcement, and to put her away? %%% Ne bamugamba nti Kale, Musa ekyamulagiza ki okumuwa ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe? 40MAT019.008 He saith unto them, Moses because of the hardness of your hearts suffered you to put away your wives: but from the beginning it was not so. %%% N'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe: naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo. 40MAT019.009 And I say unto you, Whosoever shall put away his wife, except it be for fornication, and shall marry another, committeth adultery: and whoso marrieth her which is put away doth commit adultery. %%% Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze: n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze. 40MAT019.010 His disciples say unto him, If the case of the man be so with his wife, it is not good to marry. %%% Abayigirizwa ne bamugamba nti Ebigambo eby'omusajja ne mukazi we bwe biba bwe bityo, si kirungi okuwasa. 40MAT019.011 But he said unto them, All men cannot receive this saying, save they to whom it is given. %%% N'abagamba nti Abantu bonna tebayinza kukkiriza kigambo ekyo, wabula abakiweebwa. 40MAT019.012 For there are some eunuchs, which were so born from their mother's womb: and there are some eunuchs, which were made eunuchs of men: and there be eunuchs, which have made themselves eunuchs for the kingdom of heaven's sake. He that is able to receive it, let him receive it. %%% Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu: waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu: Ayinza okukikkiriza, akikkirize. 40MAT019.013 Then were there brought unto him little children, that he should put his hands on them, and pray: and the disciples rebuked them. %%% Awo ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, asabe: abayigirizwa ne babajunga. 40MAT019.014 But Jesus said, Suffer little children, and forbid them not, to come unto me: for of such is the kingdom of heaven. %%% Naye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubanga abali ng’abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe. 40MAT019.015 And he laid his hands on them, and departed thence. %%% N'abassaako emikono n'avaayo. 40MAT019.016 And, behold, one came and said unto him, Good Master, what good thing shall I do, that I may have eternal life? %%% Laba, omuntu n'ajja gy'ali n'agamba nti Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo? 40MAT019.017 And he said unto him, Why callest thou me good? there is none good but one, that is, God: but if thou wilt enter into life, keep the commandments. %%% N'amugamba nti Lwaki ompita omulungi? Omulungi ali Omu: naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka. 40MAT019.018 He saith unto him, Which? Jesus said, Thou shalt do no murder, Thou shalt not commit adultery, Thou shalt not steal, Thou shalt not bear false witness, %%% N'amugamba nti Galuwa? Yesu n'agamba nti Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, 40MAT019.019 Honour thy father and thy mother: and, Thou shalt love thy neighbour as thyself. %%% Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. 40MAT019.020 The young man saith unto him, All these things have I kept from my youth up: what lack I yet? %%% Omulenzi n'amugamba nti Ebyo byonna nabikwata: ekimpeebuuseeko ki ate? 40MAT019.021 Jesus said unto him, If thou wilt be perfect, go and sell that thou hast, and give to the poor, and thou shalt have treasure in heaven: and come and follow me. %%% Yesu n'amugamba nti Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere. 40MAT019.022 But when the young man heard that saying, he went away sorrowful: for he had great possessions. %%% Omulenzi bwe yawulira ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde: kubanga yali alina obugagga bungi. 40MAT019.023 Then said Jesus unto his disciples, Verily I say unto you, That a rich man shall hardly enter into the kingdom of heaven. %%% Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu. 40MAT019.024 And again I say unto you, It is easier for a camel to go through the eye of a needle, than for a rich man to enter into the kingdom of God. %%% Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 40MAT019.025 When his disciples heard it, they were exceedingly amazed, saying, Who then can be saved? %%% Abayigirizwa bwe baawulira ne beewuunya nnyo, nga bagamba nti Kale ani ayinza okulokolebwa? 40MAT019.026 But Jesus beheld them, and said unto them, With men this is impossible; but with God all things are possible. %%% Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna. 40MAT019.027 Then answered Peter and said unto him, Behold, we have forsaken all, and followed thee; what shall we have therefore? %%% Awo Peetero n'addamu n'amugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tuliba na ki? 40MAT019.028 And Jesus said unto them, Verily I say unto you, That ye which have followed me, in the regeneration when the Son of man shall sit in the throne of his glory, ye also shall sit upon twelve thrones, judging the twelve tribes of Israel. %%% Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri. 40MAT019.029 And every one that hath forsaken houses, or brethren, or sisters, or father, or mother, or wife, or children, or lands, for my name's sake, shall receive an hundredfold, and shall inherit everlasting life. %%% Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. 40MAT019.030 But many that are first shall be last; and the last shall be first. %%% Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab’oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye. 40MAT020.001 For the kingdom of heaven is like unto a man that is an householder, which went out early in the morning to hire labourers into his vineyard. %%% Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu. 40MAT020.002 And when he had agreed with the labourers for a penny a day, he sent them into his vineyard. %%% Bwe yamala okulagaana n'abalimi eddinaali ey'olunaku olumu, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu. 40MAT020.003 And he went out about the third hour, and saw others standing idle in the marketplace, %%% N'afuluma essaawa nga ziri ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola; 40MAT020.004 And said unto them; Go ye also into the vineyard, and whatsoever is right I will give you. And they went their way. %%% nabo n'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabaweera ekinaatuuka. Ne bagenda. 40MAT020.005 Again he went out about the sixth and ninth hour, and did likewise. %%% N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era n'omwenda, n'akola bw'atyo. 40MAT020.006 And about the eleventh hour he went out, and found others standing idle, and saith unto them, Why stand ye here all the day idle? %%% N'afuluma essaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola? 40MAT020.007 They say unto him, Because no man hath hired us. He saith unto them, Go ye also into the vineyard; and whatsoever is right, that shall ye receive. %%% Ne bamugamba nti Kubanga tewali muntu eyatupakasizza. N'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu. 40MAT020.008 So when even was come, the lord of the vineyard saith unto his steward, Call the labourers, and give them their hire, beginning from the last unto the first. %%% Obudde bwe bwawungeera, omwami w'olusuku olw'emizabbibu n'agamba omukoza we nti Bayite abalimi, obawe empeera, osookere ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye. 40MAT020.009 And when they came that were hired about the eleventh hour, they received every man a penny. %%% N'ab'omu ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. 40MAT020.010 But when the first came, they supposed that they should have received more; and they likewise received every man a penny. %%% N'abo abaasooka bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okukirawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. 40MAT020.011 And when they had received it, they murmured against the goodman of the house, %%% Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza omwami. 40MAT020.012 Saying, These last have wrought but one hour, and thou hast made them equal unto us, which have borne the burden and heat of the day. %%% nga bagamba nti Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu, n'obenkanya naffe, abaateganye enkya n'essana nga litwokya. 40MAT020.013 But he answered one of them, and said, Friend, I do thee no wrong: didst not thou agree with me for a penny? %%% Naye n'addamu n'agamba omu ku abo nti Munnange, sikukoze bubi: tewalagaanye nange eddinaali emu? 40MAT020.014 Take that thine is, and go thy way: I will give unto this last, even as unto thee. %%% Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono ow'oluvannyuma nga ggwe. 40MAT020.015 Is it not lawful for me to do what I will with mine own? Is thine eye evil, because I am good? %%% Siyinza kukola byange nga bwe njagala? oba eriiso lyo bbi kubanga nze ndi mulungi? 40MAT020.016 So the last shall be first, and the first last: for many be called, but few chosen. %%% Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma. 40MAT020.017 And Jesus going up to Jerusalem took the twelve disciples apart in the way, and said unto them, %%% Yesu bwe yali ng'ayambuka okugenda e Yerusaalemi, n'atwala abayigirizwa ekkumi n'ababiri kyama, n'abagambira mu kkubo nti 40MAT020.018 Behold, we go up to Jerusalem; and the Son of man shall be betrayed unto the chief priests and unto the scribes, and they shall condemn him to death, %%% Laba, twambuka tugenda e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; nabo balimusalira omusango okumutta, 40MAT020.019 And shall deliver him to the Gentiles to mock, and to scourge, and to crucify him: and the third day he shall rise again. %%% era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera: n'alyoka azuukizibwa ku lunaku olw'okusatu. 40MAT020.020 Then came to him the mother of Zebedee's children with her sons, worshipping him, and desiring a certain thing of him. %%% Awo nnyina w'abaana ba Zebbedaayo n'ajja gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'amusaba ekigambo. 40MAT020.021 And he said unto her, What wilt thou? She saith unto him, Grant that these my two sons may sit, the one on thy right hand, and the other on the left, in thy kingdom. %%% N'amugamba nti Oyagala ki? N'amugamba nti Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo. 40MAT020.022 But Jesus answered and said, Ye know not what ye ask. Are ye able to drink of the cup that I shall drink of, and to be baptized with the baptism that I am baptized with? They say unto him, We are able. %%% Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako? Ne bamugamba nti Tuyinza. 40MAT020.023 And he saith unto them, Ye shall drink indeed of my cup, and be baptized with the baptism that I am baptized with: but to sit on my right hand, and on my left, is not mine to give, but it shall be given to them for whom it is prepared of my Father. %%% N'abagamba nti Ku kikompe kyange mulinywerako ddala: naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula eri abo Kitange be yakuterekera. 40MAT020.024 And when the ten heard it, they were moved with indignation against the two brethren. %%% Na bali ekkumi bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda ababiri. 40MAT020.025 But Jesus called them unto him, and said, Ye know that the princes of the Gentiles exercise dominion over them, and they that are great exercise authority upon them. %%% Naye Yesu n'abayita gy'ali, n'agamba nti Mumanyi ng'abaami b'amawanga babafuga, n'abakulu baabwe babatwala n'amaanyi. 40MAT020.026 But it shall not be so among you: but whosoever will be great among you, let him be your minister; %%% Tekiibenga bwe kityo mu mmwe: naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe: 40MAT020.027 And whosoever will be chief among you, let him be your servant: %%% na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe: 40MAT020.028 Even as the Son of man came not to be ministered unto, but to minister, and to give his life a ransom for many. %%% nga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky'abangi. 40MAT020.029 And as they departed from Jericho, a great multitude followed him. %%% Bwe baali nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimugoberera. 40MAT020.030 And, behold, two blind men sitting by the way side, when they heard that Jesus passed by, cried out, saying, Have mercy on us, O Lord, thou son of David. %%% Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu; nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi. 40MAT020.031 And the multitude rebuked them, because they should hold their peace: but they cried the more, saying, Have mercy on us, O Lord, thou son of David. %%% Ekibiina ne kibaboggolera, okusirika: naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi. 40MAT020.032 And Jesus stood still, and called them, and said, What will ye that I shall do unto you? %%% Yesu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti Mwagala mbakole ki? 40MAT020.033 They say unto him, Lord, that our eyes may be opened. %%% Ne bamugamba nti Mukama waffe, amaaso gaffe gazibuke. 40MAT020.034 So Jesus had compassion on them, and touched their eyes: and immediately their eyes received sight, and they followed him. %%% Yesu n'akwatibwa ekisa, n'akoma ku maaso gaabwe: amangu ago ne balaba, ne bamugoberera. 40MAT021.001 And when they drew nigh unto Jerusalem, and were come to Bethphage, unto the mount of Olives, then sent Jesus two disciples, %%% Bwe baasembera okumpi ne Yerusaalemi, ne batuuka e Besufaage, ku lusozi olwa Zeyituuni awo Yesu n'atuma abayigirizwa babiri, 40MAT021.002 Saying unto them, Go into the village over against you, and straightway ye shall find an ass tied, and a colt with her: loose them, and bring them unto me. %%% n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi ng'esibiddwa, n'omwana gwayo nayo; muzisumulule, muzindeetere. 40MAT021.003 And if any man say ought unto you, ye shall say, The Lord hath need of them; and straightway he will send them. %%% Naye omu bw'anaabagamba ekigambo, munaagamba nti Mukama waffe ye azaagala; naye anaaziweereza mangu ago. 40MAT021.004 All this was done, that it might be fulfilled which was spoken by the prophet, saying, %%% Kino kyabaawo, ekigambo kituukirire nnabbi kye yayogera, ng'agamba nti 40MAT021.005 Tell ye the daughter of Sion, Behold, thy King cometh unto thee, meek, and sitting upon an ass, and a colt the foal of an ass. %%% Mubuulire muwala wa Sayuuni nti Laba, Kabaka wo ajja gy'oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, N'akayana omwana gw'endogoyi. 40MAT021.006 And the disciples went, and did as Jesus commanded them, %%% Abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira 40MAT021.007 And brought the ass, and the colt, and put on them their clothes, and they set him thereon. %%% ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bazissaako engoye zaabwe; n'azituulako. 40MAT021.008 And a very great multitude spread their garments in the way; others cut down branches from the trees, and strawed them in the way. %%% Abantu bangi ab'omu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne batema amatabi ku miti, ne bagaaliira mu kkubo. 40MAT021.009 And the multitudes that went before, and that followed, cried, saying, Hosanna to the son of David: Blessed is he that cometh in the name of the Lord; Hosanna in the highest. %%% Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava ennyuma ne byogerera waggulu, ne bigamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi: Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: Ozaana waggulu mu ggulu. 40MAT021.010 And when he was come into Jerusalem, all the city was moved, saying, Who is this? %%% Awo bwe yayingira mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna ne kikankanyizibwa nga kigamba nti Ani ono? 40MAT021.011 And the multitude said, This is Jesus the prophet of Nazareth of Galilee. %%% Ebibiina ne bigamba nti Ono nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya. 40MAT021.012 And Jesus went into the temple of God, and cast out all them that sold and bought in the temple, and overthrew the tables of the moneychangers, and the seats of them that sold doves, %%% Yesu n'ayingira mu yeekaalu ya Katonda, n'agobera ebweru bonna abaali batundira mu yeekaalu. n'avuunika embaawo ez'abaali bawaanyisa effeeza, n'entebe ez'abaali batunda amayiba; 40MAT021.013 And said unto them, It is written, My house shall be called the house of prayer; but ye have made it a den of thieves. %%% n'abagamba nti Kyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi. 40MAT021.014 And the blind and the lame came to him in the temple; and he healed them. %%% Awo abazibe b'amaaso n'abalema ne bajja gy'ali mu yeekaalu: n'abawonya. 40MAT021.015 And when the chief priests and scribes saw the wonderful things that he did, and the children crying in the temple, and saying, Hosanna to the son of David; they were sore displeased, %%% Naye bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba eby'amagero bye yakola, n'abaana abaayogerera waggulu mu yeekaalu nga bagamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi; ne banyiiga 40MAT021.016 And said unto him, Hearest thou what these say? And Jesus saith unto them, Yea; have ye never read, Out of the mouth of babes and sucklings thou hast perfected praise? %%% ne bamugamba nti Owulira bano bwe bagamba? Yesu n'abagamba nti Mpulira: temusomangako nti Mu kamwa k'abaana abato n'abawere otuukirizza ettendo? 40MAT021.017 And he left them, and went out of the city into Bethany; and he lodged there. %%% N'abaleka, n'afuluma mu kibuga, n'agenda e Bessaniya, n'asula eyo. 40MAT021.018 Now in the morning as he returned into the city, he hungered. %%% Awo enkya bwe yali ng'addayo ku kibuga, enjala n'emuluma. 40MAT021.019 And when he saw a fig tree in the way, he came to it, and found nothing thereon, but leaves only, and said unto it, Let no fruit grow on thee henceforward for ever. And presently the fig tree withered away. %%% N'alaba omutiini gumu ku mabbali g'ekkubo, n'agutuukako, n'asanga nga tekuli kintu, wabula amalagala ameereere; n'agugamba nti Tobalanga bibala emirembe n'emirembe. Amangu ago omutiini ne guwotoka. 40MAT021.020 And when the disciples saw it, they marvelled, saying, How soon is the fig tree withered away! %%% Abayigirizwa bwe baalaba, ne beewuunya, ne bagamba nti Omutiini guwotose gutya amangu? 40MAT021.021 Jesus answered and said unto them, Verily I say unto you, If ye have faith, and doubt not, ye shall not only do this which is done to the fig tree, but also if ye shall say unto this mountain, Be thou removed, and be thou cast into the sea; it shall be done. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa. 40MAT021.022 And all things, whatsoever ye shall ask in prayer, believing, ye shall receive. %%% Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga musaba, nga mukkirizza, munaabiweebwanga. 40MAT021.023 And when he was come into the temple, the chief priests and the elders of the people came unto him as he was teaching, and said, By what authority doest thou these things? and who gave thee this authority? %%% N'ayingira mu yeekaalu, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja gy'ali ng'ayigiriza, ne bagamba nti Buyinza ki obukukoza bino? ani eyakuwa obuyinza buno? 40MAT021.024 And Jesus answered and said unto them, I also will ask you one thing, which if ye tell me, I in like wise will tell you by what authority I do these things. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe mnnaakinzivuunula, era nange n'ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino. 40MAT021.025 The baptism of John, whence was it? from heaven, or of men? And they reasoned with themselves, saying, If we shall say, From heaven; he will say unto us, Why did ye not then believe him? %%% Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? mu ggulu nantiki mu bantu? Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Bwe tunaagamba nti Mu ggulu: anaatugamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza? 40MAT021.026 But if we shall say, Of men; we fear the people; for all hold John as a prophet. %%% Naye bwe tunaagamba nti Mu bantu; tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nnabbi. 40MAT021.027 And they answered Jesus, and said, We cannot tell. And he said unto them, Neither tell I you by what authority I do these things. %%% Ne baddamu Yesu ne bagamba nti Tetumanyi. Naye n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino. 40MAT021.028 But what think ye? A certain man had two sons; and he came to the first, and said, Son, go work to day in my vineyard. %%% Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri; n’ajja eri ow'olubereberye, n'agamba nti Omwana, genda okole emirimu leero mu lusuku olw'emizabbibu. 40MAT021.029 He answered and said, I will not: but afterward he repented, and went. %%% N'addamu n'agamba nti ŋŋaanyi: naye oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda. 40MAT021.030 And he came to the second, and said likewise. And he answered and said, I go, sir: and went not. %%% N'ajja eri ow'okubiri, n'amugamba bw'atyo. Naye n'addamu n'agamba nti Ka ŋŋende, ssebo: n'atagenda. 40MAT021.031 Whether of them twain did the will of his father? They say unto him, The first. Jesus saith unto them, Verily I say unto you, That the publicans and the harlots go into the kingdom of God before you. %%% Ku abo bombi ani eyakola kitaawe ky'ayagala? Ne bagamba nti Ow'olubereberye. Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti abawooza n'abenzi babasooka mmwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 40MAT021.032 For John came unto you in the way of righteousness, and ye believed him not: but the publicans and the harlots believed him: and ye, when ye had seen it, repented not afterward, that ye might believe him. %%% Kubanga Yokaana yajja gye muli mu kkubo ery'obutuukirivu, nammwe temwamukkiriza: naye abawooza n'abenzi baamukkiriza: nammwe, bwe mwalaba bwe mutyo, n'oluvannyuma temwenenya okumukkiriza. 40MAT021.033 Hear another parable: There was a certain householder, which planted a vineyard, and hedged it round about, and digged a winepress in it, and built a tower, and let it out to husbandmen, and went into a far country: %%% Muwulire olugero olulala: Waaliwo omuntu eyalina ennyumba ye, n'asimba olusuku olw'emizabbibu, n'alukomerako olukomera, n'alusimamu essogolero, n'azimba ekigo, n'alusigira abalimi, n'atambula olugendo. 40MAT021.034 And when the time of the fruit drew near, he sent his servants to the husbandmen, that they might receive the fruits of it. %%% Awo omwaka bwe gwali gunaatera okutuuka ebibala okwengera, n'atuma abaddu be eri abalimi, babawe ebibala bye. 40MAT021.035 And the husbandmen took his servants, and beat one, and killed another, and stoned another. %%% Naye abalimi ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, omulala ne bamukasuukirira amayinja. 40MAT021.036 Again, he sent other servants more than the first: and they did unto them likewise. %%% N'atuma nate abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye: ne babakola nabo bwe batyo. 40MAT021.037 But last of all he sent unto them his son, saying, They will reverence my son. %%% Oluvannyuma n'abatumira omwana we, ng'agamba nti Banaawulira omwana wange. 40MAT021.038 But when the husbandmen saw the son, they said among themselves, This is the heir; come, let us kill him, and let us seize on his inheritance. %%% Naye abalimi bwe baalaba omwana ne bagamba bokka na bokka nti Ono ye musika; mujje, tumutte, tulye obusika bwe. 40MAT021.039 And they caught him, and cast him out of the vineyard, and slew him. %%% Ne bamukwata, ne bamusindiikiriza mu lusuku lw’emizabibbu, ne bamutta. 40MAT021.040 When the lord therefore of the vineyard cometh, what will he do unto those husbandmen? %%% Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'alijja, alibakola atya abalimi abo? 40MAT021.041 They say unto him, He will miserably destroy those wicked men, and will let out his vineyard unto other husbandmen, which shall render him the fruits in their seasons. %%% Ne bamugamba nti Abo ababi alibazikiriza bubi; naye olusuku olw'emizabbibu alirusigira abalimi abalala, abanaamuweerezanga ebibala byamu mu mwaka gwabyo. 40MAT021.042 Jesus saith unto them, Did ye never read in the scriptures, The stone which the builders rejected, the same is become the head of the corner: this is the Lord's doing, and it is marvellous in our eyes? %%% Yesu n'abagamba nti Temusomangako mu byawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda: Kino kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe? 40MAT021.043 Therefore say I unto you, The kingdom of God shall be taken from you, and given to a nation bringing forth the fruits thereof. %%% Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. 40MAT021.044 And whosoever shall fall on this stone shall be broken: but on whomsoever it shall fall, it will grind him to powder. %%% Era agwa ku jjinja lino alimenyekamenyeka: n'oyo gwe lirigwako, lirimubetenta. 40MAT021.045 And when the chief priests and Pharisees had heard his parables, they perceived that he spake of them. %%% Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo bwe baawulira engero ze, ne bategeera nti ayogedde ku bo. 40MAT021.046 But when they sought to lay hands on him, they feared the multitude, because they took him for a prophet. %%% Nabo bwe baali baagala okumukwata, ne batya ebibiina, kubanga byamulowooza okuba nnabbi. 40MAT022.001 And Jesus answered and spake unto them again by parables, and said, %%% Yesu n'addamu n'ayogera nabo nate mu ngero, ng'agamba nti 40MAT022.002 The kingdom of heaven is like unto a certain king, which made a marriage for his son, %%% Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyizibwa omuntu eyali kabaka, eyamufumbira omwana we embaga ey'obugole, 40MAT022.003 And sent forth his servants to call them that were bidden to the wedding: and they would not come. %%% n'atuma abaddu be okuyita abaayitirwa embaga ey'obugole: ne batayagala kujja. 40MAT022.004 Again, he sent forth other servants, saying, Tell them which are bidden, Behold, I have prepared my dinner: my oxen and my fatlings are killed, and all things are ready: come unto the marriage. %%% N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna byeteeseteese: mujje ku mbaga ey'obugole. 40MAT022.005 But they made light of it, and went their ways, one to his farm, another to his merchandise: %%% Naye bo ne batassaayo mwoyo ne bagenda, omulala mu kyalo kye, omulala mu buguzi bwe: 40MAT022.006 And the remnant took his servants, and entreated them spitefully, and slew them. %%% abaasigalawo ne bakwata abaddu be, ne babagirira ekyejo, ne babatta. 40MAT022.007 But when the king heard thereof, he was wroth: and he sent forth his armies, and destroyed those murderers, and burned up their city. %%% Kabaka n'akwatibwa obusungu; n'agaba eggye lye, n'azikiriza abassi abo, n'ayokya ekibuga kyabwe. 40MAT022.008 Then saith he to his servants, The wedding is ready, but they which were bidden were not worthy. %%% Awo n'agamba abaddu be nti Obugole bweteeseteese, naye abo abaayitibwa tebasaanira. 40MAT022.009 Go ye therefore into the highways, and as many as ye shall find, bid to the marriage. %%% Kale mugende mu masaŋŋanzira g'enguudo, bonna be munaalabayo mubayite ku mbaga ey'obugole: 40MAT022.010 So those servants went out into the highways, and gathered together all as many as they found, both bad and good: and the wedding was furnished with guests. %%% Abaddu bali ne bagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baalaba, ababi n'abalungi: obugole ne bujjula abagenyi. 40MAT022.011 And when the king came in to see the guests, he saw there a man which had not on a wedding garment: %%% Naye kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya bugole: 40MAT022.012 And he saith unto him, Friend, how camest thou in hither not having a wedding garment? And he was speechless. %%% n'amugamba nti Munnange, oyingidde otya wano nga tolina kyambalo kya bugole? n'abunira. 40MAT022.013 Then said the king to the servants, Bind him hand and foot, and take him away, and cast him into outer darkness; there shall be weeping and gnashing of teeth. %%% Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji. 40MAT022.014 For many are called, but few are chosen. %%% Kubanga bangi abayitibwa, naye abalondemu batono. 40MAT022.015 Then went the Pharisees, and took counsel how they might entangle him in his talk. %%% Awo Abafalisaayo ne bagenda, ne bateesa wamu bwe banaamutega mu bigambo. 40MAT022.016 And they sent out unto him their disciples with the Herodians, saying, Master, we know that thou art true, and teachest the way of God in truth, neither carest thou for any man: for thou regardest not the person of men. %%% Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu. 40MAT022.017 Tell us therefore, What thinkest thou? Is it lawful to give tribute unto Caesar, or not? %%% Kale tubuulire, olowooza otya? Kirungi okuwa Kayisaali omusolo, oba si weewaawo? 40MAT022.018 But Jesus perceived their wickedness, and said, Why tempt ye me, ye hypocrites? %%% Naye Yesu n'ategeera obubi bwabwe, n'agamba nti Munkemera ki, mmwe bannanfuusi? 40MAT022.019 Shew me the tribute money. And they brought unto him a penny. %%% Mundage effeeza ey'omusolo. Ne bamuleetera eddinaali. 40MAT022.020 And he saith unto them, Whose is this image and superscription? %%% N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko by'ani? 40MAT022.021 They say unto him, Caesar's. Then saith he unto them, Render therefore unto Caesar the things which are Caesar's; and unto God the things that are God's. %%% Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. Awo n'abagamba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda. 40MAT022.022 When they had heard these words, they marvelled, and left him, and went their way. %%% Bwe baawulira, ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda. 40MAT022.023 The same day came to him the Sadducees , which say that there is no resurrection, and asked him, %%% Ku lunaku olwo ne bajja gy'ali Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira: ne bamubuuza, 40MAT022.024 Saying, Master, Moses said, If a man die, having no children, his brother shall marry his wife, and raise up seed unto his brother. %%% nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yagamba nti Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we ezzadde. 40MAT022.025 Now there were with us seven brethren: and the first, when he had married a wife, deceased, and, having no issue, left his wife unto his brother: %%% Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa n'afa, naye nga bw'ataalina zzadde n'alekera muganda we mukazi we; 40MAT022.026 Likewise the second also, and the third, unto the seventh. %%% bw'atyo n'ow'okubiri, n'ow'okusatu, okutuusa bonna omusanvu. 40MAT022.027 And last of all the woman died also. %%% Oluvannyuma, bonna nga baweddewo, omukazi n'afa. 40MAT022.028 Therefore in the resurrection whose wife shall she be of the seven? for they all had her. %%% Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo omusanvu? kubanga bonna baabuna okumufumbirwa. 40MAT022.029 Jesus answered and said unto them, Ye do err, not knowing the scriptures, nor the power of God. %%% Naye Yesu n'addamu n'abagamba nti Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda. 40MAT022.030 For in the resurrection they neither marry, nor are given in marriage, but are as the angels of God in heaven. %%% Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu. 40MAT022.031 But as touching the resurrection of the dead, have ye not read that which was spoken unto you by God, saying, %%% Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasoma Katonda kye yabagamba nti 40MAT022.032 I am the God of Abraham, and the God of Isaac, and the God of Jacob? God is not the God of the dead, but of the living. %%% Nze ndi Katonda wa Ibulaimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? Si Katonda wa bafu, naye wa balamu. 40MAT022.033 And when the multitude heard this, they were astonished at his doctrine. %%% Ebibiina bwe byawulira ne byewuunya okuyigiriza kwe. 40MAT022.034 But when the Pharisees had heard that he had put the Sadducees to silence, they were gathered together. %%% Naye Abafalisaayo bwe baawulira nti abunizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaanira wamu. 40MAT022.035 Then one of them, which was a lawyer, asked him a question, tempting him, and saying, %%% Omu ku bo, ow'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti 40MAT022.036 Master, which is the great commandment in the law? %%% Omuyigiriza ekiragiro ekikulu mu mateeka kiruwa? 40MAT022.037 Jesus said unto him, Thou shalt love the Lord thy God with all thy heart, and with all thy soul, and with all thy mind. %%% Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. 40MAT022.038 This is the first and great commandment. %%% Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye. 40MAT022.039 And the second is like unto it, Thou shalt love thy neighbour as thyself. %%% N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. 40MAT022.040 On these two commandments hang all the law and the prophets. %%% Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi. 40MAT022.041 While the Pharisees were gathered together, Jesus asked them, %%% Abafalisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza, 40MAT022.042 Saying, What think ye of Christ? whose son is he? They say unto him, The son of David. %%% ng'agamba nti Kristo mumulowooza mutya? ye mwana w'ani? Ne bamugamba nti Wa Dawudi. 40MAT022.043 He saith unto them, How then doth David in spirit call him Lord, saying, %%% N'abagamba nti Kale, Dawudi mu Mwoyo kiki ekimuyisa Mukama we, ng'agamba nti 40MAT022.044 The LORD said unto my Lord, Sit thou on my right hand, till I make thine enemies thy footstool? %%% Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo? 40MAT022.045 If David then call him Lord, how is he his son? %%% Kale oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ali atya omwana we? 40MAT022.046 And no man was able to answer him a word, neither durst any man from that day forth ask him any more questions. %%% Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate. 40MAT023.001 Then spake Jesus to the multitude, and to his disciples, %%% Awo Yesu n'ayogera n'ebibiina n'abayigirizwa be, 40MAT023.002 Saying, The scribes and the Pharisees sit in Moses' seat: %%% ng'agamba nti Abawandiisi n'Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa: 40MAT023.003 All therefore whatsoever they bid you observe, that observe and do; but do not ye after their works: for they say, and do not. %%% kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikole mubikwate: naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola. 40MAT023.004 For they bind heavy burdens and grievous to be borne, and lay them on men's shoulders; but they themselves will not move them with one of their fingers. %%% Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; naye bo bennyini tebaagala kuginyeenyaako n'engalo yaabwe. 40MAT023.005 But all their works they do for to be seen of men: they make broad their phylacteries, and enlarge the borders of their garments, %%% Naye ebikolwa byabwe byonna babikola era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako amatanvuwa, 40MAT023.006 And love the uppermost rooms at feasts, and the chief seats in the synagogues, %%% era baagala ebifo eby'oku manjo ku mbaga, n'entebe ez'ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, 40MAT023.007 And greetings in the markets, and to be called of men, Rabbi, Rabbi. %%% n'okulamusibwa mu butale, n'okuyitibwa abantu nti Labbi. 40MAT023.008 But be not ye called Rabbi: for one is your Master, even Christ; and all ye are brethren. %%% Naye mmwe temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. 40MAT023.009 And call no man your father upon the earth: for one is your Father, which is in heaven. %%% Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. 40MAT023.010 Neither be ye called masters: for one is your Master, even Christ. %%% So temuyitibwanga balagirizi: kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo. 40MAT023.011 But he that is greatest among you shall be your servant. %%% Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe. 40MAT023.012 And whosoever shall exalt himself shall be abased; and he that shall humble himself shall be exalted. %%% Na buli aneegulumizanga anakkakkanyizibwanga; na buli aneekakkanyanga anaagulumizibwanga. 40MAT023.013 But woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! for ye shut up the kingdom of heaven against men: for ye neither go in yourselves, neither suffer ye them that are entering to go in. %%% Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu; kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira. 40MAT023.014 Woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! for ye devour widows' houses, and for a pretence make long prayer: therefore ye shall receive the greater damnation. %%% Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi Kubanga mulya ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo: n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene. 40MAT023.015 Woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! for ye compass sea and land to make one proselyte, and when he is made, ye make him twofold more the child of hell than yourselves. %%% Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu naye bw'alabika, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okukira mmwe. 40MAT023.016 Woe unto you, ye blind guides, which say, Whosoever shall swear by the temple, it is nothing; but whosoever shall swear by the gold of the temple, he is a debtor! %%% Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga yeekaalu, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu yeekaalu, ng'azzizza omusango. 40MAT023.017 Ye fools and blind: for whether is greater, the gold, or the temple that sanctifieth the gold? %%% Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekikira obukulu kiruwa, ezaabu, oba yeekaalu etukuza ezaabu? 40MAT023.018 And, Whosoever shall swear by the altar, it is nothing; but whosoever sweareth by the gift that is upon it, he is guilty. %%% Oba mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ekitone ekiriko, ng'azzizza omusango. 40MAT023.019 Ye fools and blind: for whether is greater, the gift, or the altar that sanctifieth the gift? %%% Mmwe abazibe b'amaaso: kubanga ekikira obukulu kiruwa, ekitone, oba ekyoto ekitukuza ekitone? 40MAT023.020 Whoso therefore shall swear by the altar, sweareth by it, and by all things thereon. %%% Naye alayira ekyoto, alayira kyo, ne byonna ebiriko. 40MAT023.021 And whoso shall swear by the temple, sweareth by it, and by him that dwelleth therein. %%% Naye alayira yeekaalu alayira yo, n'oyo atuula omwo. 40MAT023.022 And he that shall swear by heaven, sweareth by the throne of God, and by him that sitteth thereon. %%% Naye alayira eggulu, alayira ntebe ya Katonda, n'oyo agituulako. 40MAT023.023 Woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! for ye pay tithe of mint and anise and cummin, and have omitted the weightier matters of the law, judgment, mercy, and faith: these ought ye to have done, and not to leave the other undone. %%% Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, obutalyanga nsonga, n'ekisa, n'okukkirizanga: naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo. 40MAT023.024 Ye blind guides, which strain at a gnat, and swallow a camel. %%% Mmwe abasaale abazibe b'amaaso abasengejja ensiri, ne mumira eŋŋamira. 40MAT023.025 Woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! for ye make clean the outside of the cup and of the platter, but within they are full of extortion and excess. %%% Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza. 40MAT023.026 Thou blind Pharisee, cleanse first that which is within the cup and platter, that the outside of them may be clean also. %%% Ggwe Omufalisaayo omuzibe w'amaaso, sooka onaaze munda mu kikompe n’ekibya, ne kungulu kwakyo kulyoke kube kulungi. 40MAT023.027 Woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! for ye are like unto whited sepulchres, which indeed appear beautiful outward, but are within full of dead men's bones, and of all uncleanness. %%% Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa okutukula, agalabika kungulu nga gawoomye, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna. 40MAT023.028 Even so ye also outwardly appear righteous unto men, but within ye are full of hypocrisy and iniquity. %%% Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu. 40MAT023.029 Woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! because ye build the tombs of the prophets, and garnish the sepulchres of the righteous, %%% Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, muwoomya ebiggya by'abatuukirvu, 40MAT023.030 And say, If we had been in the days of our fathers, we would not have been partakers with them in the blood of the prophets. %%% ne mugamba nti Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandissizza kimu nabo mu musaayi gwa bannabbi. 40MAT023.031 Wherefore ye be witnesses unto yourselves, that ye are the children of them which killed the prophets. %%% Bwe mutyo mwetegeeza mwekka nti muli baana baabwe abatta bannabbi. 40MAT023.032 Fill ye up then the measure of your fathers. %%% Kale mujjuze ekigera kya bajjajjammwe. 40MAT023.033 Ye serpents, ye generation of vipers, how can ye escape the damnation of hell? %%% Mmwe emisota, abaana b'embalasaasa, mulidduka mutya omusango ogwa Ggeyeena? 40MAT023.034 Wherefore, behold, I send unto you prophets, and wise men, and scribes: and some of them ye shall kill and crucify; and some of them shall ye scourge in your synagogues, and persecute them from city to city: %%% Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi: n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakuba emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya mu byalo byonna: 40MAT023.035 That upon you may come all the righteous blood shed upon the earth, from the blood of righteous Abel unto the blood of Zacharias son of Barachias, whom ye slew between the temple and the altar. %%% mulyoke mujjirwe omusaayi gwonna omutuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa yeekaalu n'ekyoto. 40MAT023.036 Verily I say unto you, All these things shall come upon this generation. %%% Mazima mbagamba nti Ebigambo bino byonna birituukirira ab'emirembe gino. 40MAT023.037 O Jerusalem, Jerusalem, thou that killest the prophets, and stonest them which are sent unto thee, how often would I have gathered thy children together, even as a hen gathereth her chickens under her wings, and ye would not! %%% Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy'ali! emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekunnaanya obwana bwayo munda w'ebiwaawaatiro byayo, ne mutayagala! 40MAT023.038 Behold, your house is left unto you desolate. %%% Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa. 40MAT023.039 For I say unto you, Ye shall not see me henceforth, till ye shall say, Blessed is he that cometh in the name of the Lord. %%% Kubanga mbagamba nti Temulindabako n'akatono okusooka leero, okutuusa lwe mulyogera nti Aweebwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama. 40MAT024.001 And Jesus went out, and departed from the temple: and his disciples came to him for to shew him the buildings of the temple. %%% Yesu n'afuluma mu yeekaalu; yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga yeekaalu: 40MAT024.002 And Jesus said unto them, See ye not all these things? verily I say unto you, There shall not be left here one stone upon another, that shall not be thrown down. %%% Naye n'addamu n'abagamba nti Temulaba bino byonna? mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja eritalisuulibwa wansi. 40MAT024.003 And as he sat upon the mount of Olives, the disciples came unto him privately, saying, Tell us, when shall these things be? and what shall be the sign of thy coming, and of the end of the world? %%% Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero ak'okujja kwo bwe kaliba, n'ak'emirembe gino okuggwaawo? 40MAT024.004 And Jesus answered and said unto them, Take heed that no man deceive you. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga. 40MAT024.005 For many shall come in my name, saying, I am Christ; and shall deceive many. %%% Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti Nze Kristo; balikyamya bangi. 40MAT024.006 And ye shall hear of wars and rumours of wars: see that ye be not troubled: for all these things must come to pass, but the end is not yet. %%% Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. 40MAT024.007 For nation shall rise against nation, and kingdom against kingdom: and there shall be famines, and pestilences, and earthquakes, in divers places. %%% Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu. 40MAT024.008 All these are the beginning of sorrows. %%% Naye ebyo byonna lwe lubereberye lw'okulumwa. 40MAT024.009 Then shall they deliver you up to be afflicted, and shall kill you: and ye shall be hated of all nations for my name's sake. %%% Lwe balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange. 40MAT024.010 And then shall many be offended, and shall betray one another, and shall hate one another. %%% Mu biro ebyo bangi abalyesittala, baliwaŋŋanayo, balikyawagana. 40MAT024.011 And many false prophets shall rise, and shall deceive many. %%% Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, balikyamya bangi. 40MAT024.012 And because iniquity shall abound, the love of many shall wax cold. %%% Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola. 40MAT024.013 But he that shall endure unto the end, the same shall be saved. %%% Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa. 40MAT024.014 And this gospel of the kingdom shall be preached in all the world for a witness unto all nations; and then shall the end come. %%% N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka ejja. 40MAT024.015 When ye therefore shall see the abomination of desolation, spoken of by Daniel the prophet, stand in the holy place, (whoso readeth, let him understand:) %%% Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, (asomamu ategeere), 40MAT024.016 Then let them which be in Judaea flee into the mountains: %%% kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi: 40MAT024.017 Let him which is on the housetop not come down to take any thing out of his house: %%% ali waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye: 40MAT024.018 Neither let him which is in the field return back to take his clothes. %%% ali mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye. 40MAT024.019 And woe unto them that are with child, and to them that give suck in those days! %%% Naye ziribasanga abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! 40MAT024.020 But pray ye that your flight be not in the winter, neither on the sabbath day: %%% Nammwe musabe ekidduko kyammwe kireme okuba mu biro eby'empewo, newakubadde ku ssabbiiti: 40MAT024.021 For then shall be great tribulation, such as was not since the beginning of the world to this time, no, nor ever shall be. %%% kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate. 40MAT024.022 And except those days should be shortened, there should no flesh be saved: but for the elect's sake those days shall be shortened. %%% Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri: naye olw'abalonde ennaku ezo zirisalibwako. 40MAT024.023 Then if any man shall say unto you, Lo, here is Christ, or there; believe it not. %%% Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano, oba nti Wano; temukkirizanga. 40MAT024.024 For there shall arise false Christs, and false prophets, and shall shew great signs and wonders; insomuch that, if it were possible, they shall deceive the very elect. %%% Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, n'abo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kiyinzika. 40MAT024.025 Behold, I have told you before. %%% Laba, mbalabudde. 40MAT024.026 Wherefore if they shall say unto you, Behold, he is in the desert; go not forth: behold, he is in the secret chambers; believe it not. %%% Kale bwe babagambanga nti Laba, ali mu ddungu; temufulumanga: laba, ali mu bisenge munda; temukkirizanga. 40MAT024.027 For as the lightning cometh out of the east, and shineth even unto the west; so shall also the coming of the Son of man be. %%% Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. 40MAT024.028 For wheresoever the carcase is, there will the eagles be gathered together. %%% Awaba omulambo wonna, awo ensega we zikuŋŋaanira. 40MAT024.029 Immediately after the tribulation of those days shall the sun be darkened, and the moon shall not give her light, and the stars shall fall from heaven, and the powers of the heavens shall be shaken: %%% Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa: 40MAT024.030 And then shall appear the sign of the Son of man in heaven: and then shall all the tribes of the earth mourn, and they shall see the Son of man coming in the clouds of heaven with power and great glory. %%% awo lwe kalirabika akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: n'ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene. 40MAT024.031 And he shall send his angels with a great sound of a trumpet, and they shall gather together his elect from the four winds, from one end of heaven to the other. %%% Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'eggulu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo. 40MAT024.032 Now learn a parable of the fig tree; When his branch is yet tender, and putteth forth leaves, ye know that summer is nigh: %%% Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi; 40MAT024.033 So likewise ye, when ye shall see all these things, know that it is near, even at the doors. %%% bwe mutyo nammwe, bwe mulaba ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ku luggi. 40MAT024.034 Verily I say unto you, This generation shall not pass, till all these things be fulfilled. %%% Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa. 40MAT024.035 Heaven and earth shall pass away, but my words shall not pass away. %%% Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala. 40MAT024.036 But of that day and hour knoweth no man, no, not the angels of heaven, but my Father only. %%% Naye eby'olunaku luli n'ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka. 40MAT024.037 But as the days of Noe were, so shall also the coming of the Son of man be. %%% Naye ng'ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. 40MAT024.038 For as in the days that were before the flood they were eating and drinking, marrying and giving in marriage, until the day that Noe entered into the ark, %%% Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka a40MATaba nga balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, 40MAT024.039 And knew not until the flood came, and took them all away; so shall also the coming of the Son of man be. %%% ne batamanya okutuusa a40MATaba lwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. 40MAT024.040 Then shall two be in the field; the one shall be taken, and the other left. %%% Mu biro ebyo abasajja babiri baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa: 40MAT024.041 Two women shall be grinding at the mill; the one shall be taken, and the other left. %%% abakazi babiri baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 40MAT024.042 Watch therefore: for ye know not what hour your Lord doth come. %%% Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'ajjirako. 40MAT024.043 But know this, that if the goodman of the house had known in what watch the thief would come, he would have watched, and would not have suffered his house to be broken up. %%% Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa yamanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa. 40MAT024.044 Therefore be ye also ready: for in such an hour as ye think not the Son of man cometh. %%% Mukale nammwe mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w'omuntu ky'ajjiramu. 40MAT024.045 Who then is a faithful and wise servant, whom his lord hath made ruler over his household, to give them meat in due season? %%% Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo? 40MAT024.046 Blessed is that servant, whom his lord when he cometh shall find so doing. %%% Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw'alisanga ng'azze ngakola bw'atyo. 40MAT024.047 Verily I say unto you, That he shall make him ruler over all his goods. %%% Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna. 40MAT024.048 But and if that evil servant shall say in his heart, My lord delayeth his coming; %%% Naye omuddu oyo omubi bw'aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde; 40MAT024.049 And shall begin to smite his fellowservants, and to eat and drink with the drunken; %%% era bw'alisooka okukuba baddu banne, n'okulya n'okunywera awamu n'abatamiivu; 40MAT024.050 The lord of that servant shall come in a day when he looketh not for him, and in an hour that he is not aware of, %%% mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atalindiririramu, ne mu kiseera ky'atamanyi, 40MAT024.051 And shall cut him asunder, and appoint him his portion with the hypocrites: there shall be weeping and gnashing of teeth. %%% alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe wamu ne bannanfuusi: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji. 40MAT025.001 Then shall the kingdom of heaven be likened unto ten virgins, which took their lamps, and went forth to meet the bridegroom. %%% Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi, abaatwala ettabaaza zaabwe, ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. 40MAT025.002 And five of them were wise, and five were foolish. %%% Naye bannaabwe abataano baali basirusiru, n'abataano be baalina amagezi. 40MAT025.003 They that were foolish took their lamps, and took no oil with them: %%% Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta: 40MAT025.004 But the wise took oil in their vessels with their lamps. %%% naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n'ettabaaza zaabwe. 40MAT025.005 While the bridegroom tarried, they all slumbered and slept. %%% Naye anaawasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka. 40MAT025.006 And at midnight there was a cry made, Behold, the bridegroom cometh; go ye out to meet him. %%% Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana. 40MAT025.007 Then all those virgins arose, and trimmed their lamps. %%% Abawala bali bonna ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe. 40MAT025.008 And the foolish said unto the wise, Give us of your oil; for our lamps are gone out. %%% Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera. 40MAT025.009 But the wise answered, saying, Not so; lest there be not enough for us and you: but go ye rather to them that sell, and buy for yourselves. %%% Naye abaalina amagezi ne baddamu, ne bagamba nti Wozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulire. 40MAT025.010 And while they went to buy, the bridegroom came; and they that were ready went in with him to the marriage: and the door was shut. %%% Bwe baali bagenda okugula, anaawasa omugole n'ajja: n'abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole: oluggi ne luggalwawo. 40MAT025.011 Afterward came also the other virgins, saying, Lord, Lord, open to us. %%% Oluvannyuma abawala bali abalala nabo ne bajja, ne bagamba nti Mukama waffe, mukama waffe, tuggulirewo. 40MAT025.012 But he answered and said, Verily I say unto you, I know you not. %%% Naye n'addamu n'agamba Mazima mbagamba nti sibamanyi: 40MAT025.013 Watch therefore, for ye know neither the day nor the hour wherein the Son of man cometh. %%% Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera. 40MAT025.014 For the kingdom of heaven is as a man travelling into a far country, who called his own servants, and delivered unto them his goods. %%% Kubanga buli ng'omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye. 40MAT025.015 And unto one he gave five talents, to another two, and to another one; to every man according to his several ability; and straightway took his journey. %%% N'awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu; buli muntu ng'obuyinza bwe bwe bwali; n'agenda, 40MAT025.016 Then he that had received the five talents went and traded with the same, and made them other five talents. %%% Amangu ago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala. 40MAT025.017 And likewise he that had received two, he also gained other two. %%% Bw'atyo n'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'aviisaamu bbiri endala. 40MAT025.018 But he that had received one went and digged in the earth, and hid his lord's money. %%% Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima mu ttaka, n'akweka effeeza ya mukama we. 40MAT025.019 After a long time the lord of those servants cometh, and reckoneth with them. %%% Awo ebiro bingi bwe byayita, mukama w'abaddu bali n'ajja, n'abala nabo omuwendo. 40MAT025.020 And so he that had received five talents came and brought other five talents, saying, Lord, thou deliveredst unto me five talents: behold, I have gained beside them five talents more. %%% N'oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano: laba, naviisaamu ettalanta ttaano endala. 40MAT025.021 His lord said unto him, Well done, thou good and faithful servant: thou hast been faithful over a few things, I will make thee ruler over many things: enter thou into the joy of thy lord. %%% Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa: wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo. 40MAT025.022 He also that had received two talents came and said, Lord, thou deliveredst unto me two talents: behold, I have gained two other talents beside them. %%% N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri: laba, naviisaamu ettalanta bbiri endala. 40MAT025.023 His lord said unto him, Well done, good and faithful servant; thou hast been faithful over a few things, I will make thee ruler over many things: enter thou into the joy of thy lord. %%% Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo. 40MAT025.024 Then he which had received the one talent came and said, Lord, I knew thee that thou art an hard man, reaping where thou hast not sown, and gathering where thou hast not strawed: %%% N'oli eyaweebwa ettalanta emu n'ajja n'agamba nti Mukama wange, nakumanya ng'oli muntu mukakanavu ng'okungulira gy’otaasigira, ng'okuŋŋaanyiza gy’otaayiyira: 40MAT025.025 And I was afraid, and went and hid thy talent in the earth: lo, there thou hast that is thine. %%% ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo: laba, eyiyo oli nayo. 40MAT025.026 His lord answered and said unto him, Thou wicked and slothful servant, thou knewest that I reap where I sowed not, and gather where I have not strawed: %%% Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti Oli muddu mubi mugayaavu, wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira; 40MAT025.027 Thou oughtest therefore to have put my money to the exchangers, and then at my coming I should have received mine own with usury. %%% kale kyakugwanira okugiwa abasuubuzi effeeza yange, nange bwe nnandizze nandiweereddwa eyange n'amagoba gaamu. 40MAT025.028 Take therefore the talent from him, and give it unto him which hath ten talents. %%% Kale mumuggyeeko ettalanta, mugiwe oli alina ettalanta ekkumi. 40MAT025.029 For unto every one that hath shall be given, and he shall have abundance: but from him that hath not shall be taken away even that which he hath. %%% Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi: naye atalina, aliggibwako na kiri ky'ali nakyo. 40MAT025.030 And cast ye the unprofitable servant into outer darkness: there shall be weeping and gnashing of teeth. %%% N'omuddu oyo ataliiko ky'agasa mumusuule mu kizikiza eky'ebweru: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji. 40MAT025.031 When the Son of man shall come in his glory, and all the holy angels with him, then shall he sit upon the throne of his glory: %%% Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye: 40MAT025.032 And before him shall be gathered all nations: and he shall separate them one from another, as a shepherd divideth his sheep from the goats: %%% n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng'omusumba bw'ayawulamu endiga n'embuzi: 40MAT025.033 And he shall set the sheep on his right hand, but the goats on the left. %%% endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono. 40MAT025.034 Then shall the King say unto them on his right hand, Come, ye blessed of my Father, inherit the kingdom prepared for you from the foundation of the world: %%% Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi: 40MAT025.035 For I was an hungred, and ye gave me meat: I was thirsty, and ye gave me drink: I was a stranger, and ye took me in: %%% kubanga nnalina enjala ne mumpa ekyokulya: nnalina ennyonta ne munnywesa: nnali mugenyi ne munsuza; 40MAT025.036 Naked, and ye clothed me: I was sick, and ye visited me: I was in prison, and ye came unto me. %%% nnali bwereere ne munnyambaza: nnali mulwadde ne munnambula: nnali mu nvuba, ne mujja mundaba. 40MAT025.037 Then shall the righteous answer him, saying, Lord, when saw we thee an hungred, and fed thee? or thirsty, and gave thee drink? %%% Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa? 40MAT025.038 When saw we thee a stranger, and took thee in? or naked, and clothed thee? %%% Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? oba ng'oli bwereere ne tukwambaza? 40MAT025.039 Or when saw we thee sick, or in prison, and came unto thee? %%% Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba mu nvuba, ne tujja tukulaba? 40MAT025.040 And the King shall answer and say unto them, Verily I say unto you, Inasmuch as ye have done it unto one of the least of these my brethren, ye have done it unto me. %%% Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze. 40MAT025.041 Then shall he say also unto them on the left hand, Depart from me, ye cursed, into everlasting fire, prepared for the devil and his angels: %%% Awo libagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be: 40MAT025.042 For I was an hungred, and ye gave me no meat: I was thirsty, and ye gave me no drink: %%% kubanga nnalina enjala, temwampa kyakulya: nnalina ennyonta, temwannywesa: 40MAT025.043 I was a stranger, and ye took me not in: naked, and ye clothed me not: sick, and in prison, and ye visited me not. %%% nnali mugenyi, temwansuza: nnali bweeere, temwannyambaza: mulwadde, ne mu nvuba, temwannambula. 40MAT025.044 Then shall they also answer him, saying, Lord, when saw we thee an hungred, or athirst, or a stranger, or naked, or sick, or in prison, and did not minister unto thee? %%% Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bweeere, oba mulwadde, oba mu nvuba, ne tutakuweereza? 40MAT025.045 Then shall he answer them, saying, Verily I say unto you, Inasmuch as ye did it not to one of the least of these, ye did it not to me. %%% Awo alibaddamu, ng'agamba nti Mazima nbagamba nti Nga bwe mutaakola omu ku abo abasinga obuto, temwakikola nze. 40MAT025.046 And these shall go away into everlasting punishment: but the righteous into life eternal. %%% Ne bano baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo. 40MAT026.001 And it came to pass, when Jesus had finished all these sayings, he said unto his disciples, %%% Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti 40MAT026.002 Ye know that after two days is the feast of the passover, and the Son of man is betrayed to be crucified. %%% Mumanyi nti olw'ebbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa. 40MAT026.003 Then assembled together the chief priests, and the scribes, and the elders of the people, unto the palace of the high priest, who was called Caiaphas, %%% Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwa Kayaafa; 40MAT026.004 And consulted that they might take Jesus by subtilty, and kill him. %%% ne bateeseza wamu Yesu okumukwasa amagezi, bamutte. 40MAT026.005 But they said, Not on the feast day, lest there be an uproar among the people. %%% Naye ne bagamba nti Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okukaayana. 40MAT026.006 Now when Jesus was in Bethany, in the house of Simon the leper, %%% Naye Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge, 40MAT026.007 There came unto him a woman having an alabaster box of very precious ointment, and poured it on his head, as he sat at meat. %%% omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya. 40MAT026.008 But when his disciples saw it, they had indignation, saying, To what purpose is this waste? %%% Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti Gafudde ki gano? 40MAT026.009 For this ointment might have been sold for much, and given to the poor. %%% Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ebintu bingi, okuwa abaavu. 40MAT026.010 When Jesus understood it, he said unto them, Why trouble ye the woman? for she hath wrought a good work upon me. %%% Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Munakuwaliza ki omukazi? kubanga ankoze ekigambo ekirungi. 40MAT026.011 For ye have the poor always with you; but me ye have not always. %%% Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye temuli nange bulijjo. 40MAT026.012 For in that she hath poured this ointment on my body, she did it for my burial. %%% Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika. 40MAT026.013 Verily I say unto you, Wheresoever this gospel shall be preached in the whole world, there shall also this, that this woman hath done, be told for a memorial of her. %%% Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira. 40MAT026.014 Then one of the twelve, called Judas Iscariot, went unto the chief priests, %%% Awo omu ku abo ekkumi n'ababiri, eyayitibwa Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu, 40MAT026.015 And said unto them, What will ye give me, and I will deliver him unto you? And they covenanted with him for thirty pieces of silver. %%% n'agamba nti Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 40MAT026.016 And from that time he sought opportunity to betray him. %%% N'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo. 40MAT026.017 Now the first day of the feast of unleavened bread the disciples came to Jesus, saying unto him, Where wilt thou that we prepare for thee to eat the passover? %%% Naye ku lunaku olusookerwako olw'emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'onookuliira? 40MAT026.018 And he said, Go into the city to such a man, and say unto him, The Master saith, My time is at hand; I will keep the passover at thy house with my disciples. %%% N'agamba nti Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange. 40MAT026.019 And the disciples did as Jesus had appointed them; and they made ready the passover. %%% Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako. 40MAT026.020 Now when the even was come, he sat down with the twelve. %%% Awo obudde bwe bwawungeera, n'atuula okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri; 40MAT026.021 And as they did eat, he said, Verily I say unto you, that one of you shall betray me. %%% era baali balya; n'agamba nti Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe. 40MAT026.022 And they were exceeding sorrowful, and began every one of them to say unto him, Lord, is it I? %%% Ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumugamba nti Mukama wange, ye nze? 40MAT026.023 And he answered and said, He that dippeth his hand with me in the dish, the same shall betray me. %%% Naye n'addamu n'agamba nti Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe. 40MAT026.024 The Son of man goeth as it is written of him: but woe unto that man by whom the Son of man is betrayed! it had been good for that man if he had not been born. %%% Omwana w'omuntu agenda, nga bwe yawandiikirwa: naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo. 40MAT026.025 Then Judas, which betrayed him, answered and said, Master, is it I? He said unto him, Thou hast said. %%% Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti Labbi, ye nze? N'amugamba nti Ggwe oyogedde. 40MAT026.026 And as they were eating, Jesus took bread, and blessed it, and brake it, and gave it to the disciples, and said, Take, eat; this is my body. %%% Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange. 40MAT026.027 And he took the cup, and gave thanks, and gave it to them, saying, Drink ye all of it; %%% N'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa, ng'agamba nti Munywe ku kino mwenna; 40MAT026.028 For this is my blood of the new testament, which is shed for many for the remission of sins. %%% kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi. 40MAT026.029 But I say unto you, I will not drink henceforth of this fruit of the vine, until that day when I drink it new with you in my Father's kingdom. %%% Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange. 40MAT026.030 And when they had sung an hymn, they went out into the mount of Olives. %%% Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 40MAT026.031 Then saith Jesus unto them, All ye shall be offended because of me this night: for it is written, I will smite the shepherd, and the sheep of the flock shall be scattered abroad. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa. 40MAT026.032 But after I am risen again, I will go before you into Galilee. %%% Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya. 40MAT026.033 Peter answered and said unto him, Though all men shall be offended because of thee, yet will I never be offended. %%% Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti Bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono. 40MAT026.034 Jesus said unto him, Verily I say unto thee, That this night, before the cock crow, thou shalt deny me thrice. %%% Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu. 40MAT026.035 Peter said unto him, Though I should die with thee, yet will I not deny thee. Likewise also said all the disciples. %%% Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga kiiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. N'abayigirizwa bonna ne boogera bwe batyo. 40MAT026.036 Then cometh Jesus with them unto a place called Gethsemane, and saith unto the disciples, Sit ye here, while I go and pray yonder. %%% Awo Yesu n'atuuka nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano, ŋŋende eri nsabe. 40MAT026.037 And he took with him Peter and the two sons of Zebedee, and began to be sorrowful and very heavy. %%% N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atanula okunakuwala n'okweraliikirira ennyo. 40MAT026.038 Then saith he unto them, My soul is exceeding sorrowful, even unto death: tarry ye here, and watch with me. %%% Awo n'abagamba nti Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi, zigenda kunzita : mubeere wano, mutunule nange. 40MAT026.039 And he went a little farther, and fell on his face, and prayed, saying, O my Father, if it be possible, let this cup pass from me: nevertheless not as I will, but as thou wilt. %%% N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala wabula nga ggwe bw’oyagala. 40MAT026.040 And he cometh unto the disciples, and findeth them asleep, and saith unto Peter, What, could ye not watch with me one hour? %%% Nadda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu? 40MAT026.041 Watch and pray, that ye enter not into temptation: the spirit indeed is willing, but the flesh is weak. %%% Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu. 40MAT026.042 He went away again the second time, and prayed, saying, O my Father, if this cup may not pass away from me, except I drink it, thy will be done. %%% Nate n'agenda omulundi ogw'okubiri, n'asaba, ng'agamba nti Ai Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe. 40MAT026.043 And he came and found them asleep again: for their eyes were heavy. %%% N'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga. 40MAT026.044 And he left them, and went away again, and prayed the third time, saying the same words. %%% N'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogw'okusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri. 40MAT026.045 Then cometh he to his disciples, and saith unto them, Sleep on now, and take your rest: behold, the hour is at hand, and the Son of man is betrayed into the hands of sinners. %%% Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: laba, ekiseera kinaatera okutuuka, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi. 40MAT026.046 Rise, let us be going: behold, he is at hand that doth betray me. %%% Muyimuke tugende: laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka. 40MAT026.047 And while he yet spake, lo, Judas, one of the twelve, came, and with him a great multitude with swords and staves, from the chief priests and elders of the people. %%% Yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja, ng'alina ebibiina bingi ebirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu. 40MAT026.048 Now he that betrayed him gave them a sign, saying, Whomsoever I shall kiss, that same is he: hold him fast. %%% Naye oyo amulyamu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo: mumukwate. 40MAT026.049 And forthwith he came to Jesus, and said, Hail, master; and kissed him. %%% Amangu ago n'ajja awali Yesu, n'agamba nti Mirembe, Labbi; n'amunywegera nnyo. 40MAT026.050 And Jesus said unto him, Friend, wherefore art thou come? Then came they, and laid hands on Jesus, and took him. %%% Yesu n'amugamba nti Munnange, kola ky'ojjiridde. Awo ne bajja, Yesu ne bamussaako emikono, ne bamukwata. 40MAT026.051 And, behold, one of them which were with Jesus stretched out his hand, and drew his sword, and struck a servant of the high priest's, and smote off his ear. %%% Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu. 40MAT026.052 Then said Jesus unto him, Put up again thy sword into his place: for all they that take the sword shall perish with the sword. %%% Awo Yesu n'amugamba nti Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala. 40MAT026.053 Thinkest thou that I cannot now pray to my Father, and he shall presently give me more than twelve legions of angels? %%% Oba olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n'ebbiri? 40MAT026.054 But how then shall the scriptures be fulfilled, that thus it must be? %%% Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo? 40MAT026.055 In that same hour said Jesus to the multitudes, Are ye come out as against a thief with swords and staves for to take me? I sat daily with you teaching in the temple, and ye laid no hold on me. %%% Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti Muli ng'abajjiridde omunyazi n'ebitala n'emiggo okunkwata? Nnatuulanga buli lunaku mu yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata. 40MAT026.056 But all this was done, that the scriptures of the prophets might be fulfilled. Then all the disciples forsook him, and fled. %%% Naye kino kyonna kituuse, bannabbi bye baawandiika era bituukirizibwe. Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira, ne badduka. 40MAT026.057 And they that had laid hold on Jesus led him away to Caiaphas the high priest, where the scribes and the elders were assembled. %%% Ne bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baakuŋŋaanira. 40MAT026.058 But Peter followed him afar off unto the high priest's palace, and went in, and sat with the servants, to see the end. %%% Naye Peetero n'amuvaako ennyuma wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira. 40MAT026.059 Now the chief priests, and elders, and all the council, sought false witness against Jesus, to put him to death; %%% Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte; 40MAT026.060 But found none: yea, though many false witnesses came, yet found they none. At the last came two false witnesses, %%% ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne bajja babiri, 40MAT026.061 And said, This fellow said, I am able to destroy the temple of God, and to build it in three days. %%% ne bagamba nti Ono yagamba nti Nnyinza okumenya yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu. 40MAT026.062 And the high priest arose, and said unto him, Answerest thou nothing? what is it which these witness against thee? %%% Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amugamba nti Toyanukula n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumiriza? 40MAT026.063 But Jesus held his peace. And the high priest answered and said unto him, I adjure thee by the living God, that thou tell us whether thou be the Christ, the Son of God. %%% Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda. 40MAT026.064 Jesus saith unto him, Thou hast said: nevertheless I say unto you, Hereafter shall ye see the Son of man sitting on the right hand of power, and coming in the clouds of heaven. %%% Yesu n'amugamba nti Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajjira ku bire eby'eggulu. 40MAT026.065 Then the high priest rent his clothes, saying, He hath spoken blasphemy; what further need have we of witnesses? behold, now ye have heard his blasphemy. %%% Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti Avvodde Katonda: twagalira ki nate abajulirwa? laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe: 40MAT026.066 What think ye? They answered and said, He is guilty of death. %%% mulowooza mutya? Ne baddamu ne bagamba nti Agwanidde kufa. 40MAT026.067 Then did they spit in his face, and buffeted him; and others smote him with the palms of their hands, %%% Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde: abalala ne bamukuba empi 40MAT026.068 Saying, Prophesy unto us, thou Christ, Who is he that smote thee? %%% nga bagamba nti Tulagule Kristo: ani akukubye? 40MAT026.069 Now Peter sat without in the palace: and a damsel came unto him, saying, Thou also wast with Jesus of Galilee. %%% Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango: omuwala n'ajja gy'ali, n'agamba nti Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya. 40MAT026.070 But he denied before them all, saying, I know not what thou sayest. %%% Naye ne yeegaanira mu maaso ga bonna ng'agamba nti Ky'ogamba sikimanyi. 40MAT026.071 And when he was gone out into the porch, another maid saw him, and said unto them that were there, This fellow was also with Jesus of Nazareth. %%% Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi. 40MAT026.072 And again he denied with an oath, I do not know the man. %%% Ne yeegaana nate, n'alayira nti Omuntu oyo simumanyi. 40MAT026.073 And after a while came unto him they that stood by, and said to Peter, Surely thou also art one of them; for thy speech bewrayeth thee. %%% Ne wayitawo ebba nga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekutegeezezza. 40MAT026.074 Then began he to curse and to swear, saying, I know not the man. And immediately the cock crew. %%% Awo n'atanula okukolima n'okulayira nti Omuntu oyo simumanyi. Amangu ago enkoko n'ekookolima. 40MAT026.075 And Peter remembered the word of Jesus, which said unto him, Before the cock crow, thou shalt deny me thrice. And he went out, and wept bitterly. %%% Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaanira emirundi esatu. N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga. 40MAT027.001 When the morning was come, all the chief priests and elders of the people took counsel against Jesus to put him to death: %%% Naye obudde bwe bwakya bakabona abakulu bonna n'a bakadde b'abantu ne bateesa wamu ebya Yesu okumutta: 40MAT027.002 And when they had bound him, they led him away, and delivered him to Pontius Pilate the governor. %%% ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato ow'essaza. 40MAT027.003 Then Judas, which had betrayed him, when he saw that he was condemned, repented himself, and brought again the thirty pieces of silver to the chief priests and elders, %%% Awo Yuda, eyamulyamu olukwe, bwe yalaba ng'omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo amakumi asatu ebya ffeeza 40MAT027.004 Saying, I have sinned in that I have betrayed the innocent blood. And they said, What is that to us? see thou to that. %%% ng'agamba nti Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi. Naye bo ne bamugamba nti Guno guli ku ffe? musango gwo. 40MAT027.005 And he cast down the pieces of silver in the temple, and departed, and went and hanged himself. %%% Effeeza n'azisuula mu yeekaalu n'afuluma, n'agenda yeetuga. 40MAT027.006 And the chief priests took the silver pieces, and said, It is not lawful for to put them into the treasury, because it is the price of blood. %%% Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi. 40MAT027.007 And they took counsel, and bought with them the potter's field, to bury strangers in. %%% Ne bateesa, ne bazigulamu olusuku lw’omubumbi, okuziikangamu abagenyi. 40MAT027.008 Wherefore that field was called, The field of blood, unto this day. %%% Olusuku luli kyeruva luyitibwa olusuku lw'omusaayi, ne kaakano. 40MAT027.009 Then was fulfilled that which was spoken by Jeremy the prophet, saying, And they took the thirty pieces of silver, the price of him that was valued, whom they of the children of Israel did value; %%% Awo lwe kyatuukirira ekyayogererwa mu nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti Ne batwala ebitundu ebya ffeeza amakumi asatu, omuwendo gw'oyo gwe baalamula omuwendo, abantu ku baana ba Isiraeri gwe baalamula; 40MAT027.010 And gave them for the potter's field, as the Lord appointed me. %%% ne babiggyamu olusuku lw'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira. 40MAT027.011 And Jesus stood before the governor: and the governor asked him, saying, Art thou the King of the Jews? And Jesus said unto him, Thou sayest. %%% Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'ow'essaza: ow'essaza n'amubuuza ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Yesu n'amugamba nti Oyogedde. 40MAT027.012 And when he was accused of the chief priests and elders, he answered nothing. %%% Bakabona abakulu n'abakadde bwe baamuloopa, n'ataddamu n'akatono. 40MAT027.013 Then said Pilate unto him, Hearest thou not how many things they witness against thee? %%% Awo Piraato n'amugamba nti Towulira bigambo bino bye bakulumiriza bwe biri? 40MAT027.014 And he answered him to never a word; insomuch that the governor marvelled greatly. %%% Naye teyamuddamu na kigambo na kimu: ow'essaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo. 40MAT027.015 Now at that feast the governor was wont to release unto the people a prisoner, whom they would. %%% Naye ku mbaga ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga. 40MAT027.016 And they had then a notable prisoner, called Barabbas. %%% Era mu biro ebyo baalina omusibe omumanyi, ayitibwa Balaba. 40MAT027.017 Therefore when they were gathered together, Pilate said unto them, Whom will ye that I release unto you? Barabbas, or Jesus which is called Christ? %%% Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti Aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo? 40MAT027.018 For he knew that for envy they had delivered him. %%% Kubanga yamanya nga bamuweesezzaayo buggya. 40MAT027.019 When he was set down on the judgment seat, his wife sent unto him, saying, Have thou nothing to do with that just man: for I have suffered many things this day in a dream because of him. %%% Naye bwe yatuula ku ntebe ey'emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti Omuntu oyo omutuukirivu tomukola kintu n'akatono: kubanga nnalumiddwa leero bingi mu kirooto ku lulwe. 40MAT027.020 But the chief priests and elders persuaded the multitude that they should ask Barabbas, and destroy Jesus. %%% Naye bakabona abakulu n'abakadde ne babuulirira ebibiina okusaba Balaba, bazikirize Yesu. 40MAT027.021 The governor answered and said unto them, Whether of the twain will ye that I release unto you? They said, Barabbas. %%% Naye ow'essaza n'addamu n'abagamba nti Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Ne bagamba nti Balaba. 40MAT027.022 Pilate saith unto them, What shall I do then with Jesus which is called Christ? They all say unto him, Let him be crucified. %%% Piraato n'abagamba nti Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo? Bonna ne bagamba nti Akomererwe. 40MAT027.023 And the governor said, Why, what evil hath he done? But they cried out the more, saying, Let him be crucified. %%% Naye n'agamba nti Lwaki? ekibi ky'akoze kiruwa? Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti Akonererwe. 40MAT027.024 When Pilate saw that he could prevail nothing, but that rather a tumult was made, he took water, and washed his hands before the multitude, saying, I am innocent of the blood of this just person: see ye to it. 40MAT027.024 Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi,n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu: musango gwammwe. 40MAT027.025 Then answered all the people, and said, His blood be on us, and on our children. %%% Abantu bonna ne baddamu ne Bagamba nti Omusaayi gwe gubeere ku ffe, ne ku baana baffe. 40MAT027.026 Then released he Barabbas unto them: and when he had scourged Jesus, he delivered him to be crucified. %%% Awo n'abasumululira Balaba : naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa. 40MAT027.027 Then the soldiers of the governor took Jesus into the common hall, and gathered unto him the whole band of soldiers. %%% Awo basserikale b'ow'essaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋŋaanyizaako ekitongole kyonna. 40MAT027.028 And they stripped him, and put on him a scarlet robe. %%% Ne bamwambula, ne bamwambaza olugoye olumyufu. 40MAT027.029 And when they had platted a crown of thorns, they put it upon his head, and a reed in his right hand: and they bowed the knee before him, and mocked him, saying, Hail, King of the Jews! %%% Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! 40MAT027.030 And they spit upon him, and took the reed, and smote him on the head. %%% Ne bamuwandira amalusu, ne batoola olumuli luli ne bamukuba mu mutwe. 40MAT027.031 And after that they had mocked him, they took the robe off from him, and put his own raiment on him, and led him away to crucify him. %%% Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulako olugoye, ne bamwambaza ebyambalo bye, ne bamutwala okumukomerera. 40MAT027.032 And as they came out, they found a man of Cyrene, Simon by name: him they compelled to bear his cross. %%% Naye bwe baali bafuluma, ne basisinkana omu Omukuleene, erinnya lye Simooni: ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwe. 40MAT027.033 And when they were come unto a place called Golgotha, that is to say, a place of a skull, %%% Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga, 40MAT027.034 They gave him vinegar to drink mingled with gall: and when he had tasted thereof, he would not drink. %%% ne bamuwa omwenge okunywa ogutabuddwamu omususa: naye bwe yalegako, n'atayagala kunywa. 40MAT027.035 And they crucified him, and parted his garments, casting lots: that it might be fulfilled which was spoken by the prophet, They parted my garments among them, and upon my vesture did they cast lots. %%% Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu; 40MAT027.036 And sitting down they watched him there; %%% ne batuula awo ne bamutunuulira. 40MAT027.037 And set up over his head his accusation written, THIS IS JESUS THE KING OF THE JEWS. %%% Ne bassa waggulu ku mutwe gwe omusango gwe oguwandiikiddwa nti ONO YE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA. 40MAT027.038 Then were there two thieves crucified with him, one on the right hand, and another on the left. %%% Awo abanyazi babiri ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, omulala ku gwa kkono. 40MAT027.039 And they that passed by reviled him, wagging their heads, %%% N'abaali bayita ne bamuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe, 40MAT027.040 And saying, Thou that destroyest the temple, and buildest it in three days, save thyself. If thou be the Son of God, come down from the cross. %%% nga bagamba nti Ggwe amenya yeekaalu, agizimbira ennaku essatu, weerokole: oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke. 40MAT027.041 Likewise also the chief priests mocking him, with the scribes and elders, said, %%% Bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde ne baduula bwe batyo, nga bagamba nti 40MAT027.042 He saved others; himself he cannot save. If he be the King of Israel, let him now come down from the cross, and we will believe him. %%% Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza. 40MAT027.043 He trusted in God; let him deliver him now, if he will have him: for he said, I am the Son of God. %%% Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala: kubanga yagamba nti Ndi Mwana wa Katonda. 40MAT027.044 The thieves also, which were crucified with him, cast the same in his teeth. %%% Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo. 40MAT027.045 Now from the sixth hour there was darkness over all the land unto the ninth hour. %%% Naye okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda. 40MAT027.046 And about the ninth hour Jesus cried with a loud voice, saying, Eli, Eli, lama sabachthani? that is to say, My God, my God, why hast thou forsaken me? %%% Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti Eri, Eri, lama sabakusaani? amakulu gaakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? 40MAT027.047 Some of them that stood there, when they heard that, said, This man calleth for Elias. %%% Naye abalala abaali bayimiridewo, bwe baawulira, ne bagamba nti Ono ayita Eriya. 40MAT027.048 And straightway one of them ran, and took a spunge, and filled it with vinegar, and put it on a reed, and gave him to drink. %%% Amangu ago munnaabwe omu n'addukana, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa. 40MAT027.049 The rest said, Let be, let us see whether Elias will come to save him. %%% Naye abalala ne bagamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumulokola. 40MAT027.050 Jesus, when he had cried again with a loud voice, yielded up the ghost. %%% Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe. 40MAT027.051 And, behold, the veil of the temple was rent in twain from the top to the bottom; and the earth did quake, and the rocks rent; %%% Laba, eggigi lya yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika: 40MAT027.052 And the graves were opened; and many bodies of the saints which slept arose, %%% entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa; 40MAT027.053 And came out of the graves after his resurrection, and went into the holy city, and appeared unto many. %%% ne bava mu ntaana bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, bangi ne babalaba. 40MAT027.054 Now when the centurion, and they that were with him, watching Jesus, saw the earthquake, and those things that were done, they feared greatly, saying, Truly this was the Son of God. %%% Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga batunuulira Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti Mazima ono abadde Mwana wa Katonda. 40MAT027.055 And many women were there beholding afar off, which followed Jesus from Galilee, ministering unto him: %%% Waaliwo n'abakazi bangi abaayimirira ewala nga balengera, abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, abaamuweerezanga: 40MAT027.056 Among which was Mary Magdalene, and Mary the mother of James and Joses, and the mother of Zebedee's children. %%% mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo. 40MAT027.057 When the even was come, there came a rich man of Arimathaea, named Joseph, who also himself was Jesus' disciple: %%% Naye obudde bwali buwungeera, n'ajja omuntu omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu, era naye yali muyigirizwa wa Yesu: 40MAT027.058 He went to Pilate, and begged the body of Jesus. Then Pilate commanded the body to be delivered. %%% oyo n'agenda eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa. 40MAT027.059 And when Joseph had taken the body, he wrapped it in a clean linen cloth, %%% Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru, 40MAT027.060 And laid it in his own new tomb, which he had hewn out in the rock: and he rolled a great stone to the door of the sepulchre, and departed. %%% n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi: n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda. 40MAT027.061 And there was Mary Magdalene, and the other Mary, sitting over against the sepulchre. %%% Waaliwo Malyamu Magudaleene, ne Malyamu ow'okubiri, nga batudde mu maaso g'entaana. 40MAT027.062 Now the next day, that followed the day of the preparation, the chief priests and Pharisees came together unto Pilate, %%% Naye enkya, lwe lunaku olwaddirira olw'Okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato, 40MAT027.063 Saying, Sir, we remember that that deceiver said, while he was yet alive, After three days I will rise again. %%% ne bagamba nti Omwami, tujjukidde omulimba oyo eyagamba ng'akyali mulamu nti Ennaku bwe ziriyitawo essatu ndizuukira. 40MAT027.064 Command therefore that the sepulchre be made sure until the third day, lest his disciples come by night, and steal him away, and say unto the people, He is risen from the dead: so the last error shall be worse than the first. %%% Kale lagira bakuumire ddala amalaalo okutuusa ku lunaku olw'okusatu, abayigirizwa be batera okujja okumubba, bagambe abantu nti Azuukidde mu bafu: era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka. 40MAT027.065 Pilate said unto them, Ye have a watch: go your way, make it as sure as ye can. %%% Piraato n'abagamba nti Mulina abakuumi: mugende, mugakuumire ddala nga bwe muyinza. 40MAT027.066 So they went, and made the sepulchre sure, sealing the stone, and setting a watch. %%% Nabo ne bagenda, ne bagakuumira ddala amalaalo, ejjinja ne balissaako akabonero, n'abakuumi nga weebali. 40MAT028.001 In the end of the sabbath, as it began to dawn toward the first day of the week, came Mary Magdalene and the other Mary to see the sepulchre. %%% Naye olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olw'olubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu ow'okubiri ne bajja okulaba amalaalo. 40MAT028.002 And, behold, there was a great earthquake: for the angel of the Lord descended from heaven, and came and rolled back the stone from the door, and sat upon it. %%% Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja okuliggyawo, n'alituulako. 40MAT028.003 His countenance was like lightning, and his raiment white as snow: %%% Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira: 40MAT028.004 And for fear of him the keepers did shake, and became as dead men. %%% era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde. 40MAT028.005 And the angel answered and said unto the women, Fear not ye: for I know that ye seek Jesus, which was crucified. %%% Naye malayika n'addamu n'agamba abakazi nti Mmwe temutya: kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. 40MAT028.006 He is not here: for he is risen, as he said. Come, see the place where the Lord lay. %%% Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira. 40MAT028.007 And go quickly, and tell his disciples that he is risen from the dead; and, behold, he goeth before you into Galilee; there shall ye see him: lo, I have told you. %%% Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; gye mulimulabira: laba, mbabuulidde. 40MAT028.008 And they departed quickly from the sepulchre with fear and great joy; and did run to bring his disciples word. %%% Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa n'essanyu lingi, ne baddukana okubuulira abayigirizwa be. 40MAT028.009 And as they went to tell his disciples, behold, Jesus met them, saying, All hail. And they came and held him by the feet, and worshipped him. %%% Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti Mirembe. Ne bajja ne bamukwata ebigere, ne bamusinza. 40MAT028.010 Then said Jesus unto them, Be not afraid: go tell my brethren that they go into Galilee, and there shall they see me. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Temutya: mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira. 40MAT028.011 Now when they were going, behold, some of the watch came into the city, and shewed unto the chief priests all the things that were done. %%% Naye bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddeyo. 40MAT028.012 And when they were assembled with the elders, and had taken counsel, they gave large money unto the soldiers, %%% Ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne babaweera basserikale effeeza nnyingi, 40MAT028.013 Saying, Say ye, His disciples came by night, and stole him away while we slept. %%% ne bagamba nti Mugambanga nti Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase. 40MAT028.014 And if this come to the governor's ears, we will persuade him, and secure you. %%% Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa ow'essaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango. 40MAT028.015 So they took the money, and did as they were taught: and this saying is commonly reported among the Jews until this day. %%% Nabo ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweererwa: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusa leero. 40MAT028.016 Then the eleven disciples went away into Galilee, into a mountain where Jesus had appointed them. %%% Naye abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Ggaliraaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira. 40MAT028.017 And when they saw him, they worshipped him: but some doubted. %%% Bwe baamulaba ne bamusinza: naye abalala ne babuusabuusa. 40MAT028.018 And Jesus came and spake unto them, saying, All power is given unto me in heaven and in earth. %%% Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 40MAT028.019 Go ye therefore, and teach all nations, baptizing them in the name of the Father, and of the Son, and of the Holy Ghost: %%% Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu; 40MAT028.020 Teaching them to observe all things whatsoever I have commanded you: and, lo, I am with you alway, even unto the end of the world. Amen. %%% nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo. 41MAR001.001 The beginning of the gospel of Jesus Christ, the Son of God; %%% Okusooka kw'enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda. 41MAR001.002 As it is written in the prophets, Behold, I send my messenger before thy face, which shall prepare thy way before thee. %%% Nga bwe kyawandiikibwa mu nnabbi Isaaya nti Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo; 41MAR001.003 The voice of one crying in the wilderness, Prepare ye the way of the Lord, make his paths straight. %%% Eddoboozi lye ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge; 41MAR001.004 John did baptize in the wilderness, and preach the baptism of repentance for the remission of sins. %%% Yokaana yajja eyabatiza mu ddungu n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggibwako ebibi. 41MAR001.005 And there went out unto him all the land of Judaea, and they of Jerusalem, and were all baptized of him in the river of Jordan, confessing their sins. %%% N'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali ne babatizibwa ye mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. 41MAR001.006 And John was clothed with camel's hair, and with a girdle of a skin about his loins; and he did eat locusts and wild honey; %%% Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, n'olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya enzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko. 41MAR001.007 And preached, saying, There cometh one mightier than I after me, the latchet of whose shoes I am not worthy to stoop down and unloose. %%% N'abuulira ng'agamba nti Ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula lukoba lwa ngatto ze. 41MAR001.008 I indeed have baptized you with water: but he shall baptize you with the Holy Ghost. %%% Nze nababatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu. 41MAR001.009 And it came to pass in those days, that Jesus came from Nazareth of Galilee, and was baptized of John in Jordan. %%% Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja okubatizibwa Yokaana mu Yoludaani. 41MAR001.010 And straightway coming up out of the water, he saw the heavens opened, and the Spirit like a dove descending upon him: %%% Amangu ago bwe yava mu mazzi, n'alaba eggulu nga liyulise, n'Omwoyo ng'ali ng'ejjiba ng'akka ku ye: 41MAR001.011 And there came a voice from heaven, saying, Thou art my beloved Son, in whom I am well pleased. %%% n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu erigamba nti Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo. 41MAR001.012 And immediately the Spirit driveth him into the wilderness. %%% Amangu ago Omwoyo n'amugobera mu ddungu. 41MAR001.013 And he was there in the wilderness forty days, tempted of Satan; and was with the wild beasts; and the angels ministered unto him. %%% N'amalayo mu ddungu ennaku amakumi ana ng'akemebwa Setaani; n'aba wamu n'ensolo; bamalayika ne bamuweereza. 41MAR001.014 Now after that John was put in prison, Jesus came into Galilee, preaching the gospel of the kingdom of God, %%% Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okuweebwayo, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira enjiri ya Katonda, 41MAR001.015 And saying, The time is fulfilled, and the kingdom of God is at hand: repent ye, and believe the gospel. %%% ng'agamba nti Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize enjiri. 41MAR001.016 Now as he walked by the sea of Galilee, he saw Simon and Andrew his brother casting a net into the sea: for they were fishers. %%% Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya n'alaba Simooni ne Andereya muganda wa Simooni nga basuula omugonjo mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 41MAR001.017 And Jesus said unto them, Come ye after me, and I will make you to become fishers of men. %%% Yesu n'abagamba nti Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu. 41MAR001.018 And straightway they forsook their nets, and followed him. %%% Amangu ago ne baleka awo emigonjo ne bagenda naye. 41MAR001.019 And when he had gone a little farther thence, he saw James the son of Zebedee, and John his brother, who also were in the ship mending their nets. %%% Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga bayunga emigonjo. 41MAR001.020 And straightway he called them: and they left their father Zebedee in the ship with the hired servants, and went after him. %%% Amangu ago n'abayita: ne baleka awo kitaabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakolera empeera, ne bamugoberera. 41MAR001.021 And they went into Capernaum; and straightway on the sabbath day he entered into the synagogue, and taught. %%% Ne bayingira e Kaperunawumu; amangu ago ku lunaku lwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza. 41MAR001.022 And they were astonished at his doctrine: for he taught them as one that had authority, and not as the scribes. %%% Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga ye nnyini buyinza, so si ng'abawandiisi. 41MAR001.023 And there was in their synagogue a man with an unclean spirit; and he cried out, %%% Amangu ago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko dayimooni omubi; n'akaaba 41MAR001.024 Saying, Let us alone; what have we to do with thee, thou Jesus of Nazareth? art thou come to destroy us? I know thee who thou art, the Holy One of God. %%% nga agamba nti Otuvunaana ki, Yesu ow'e Nazaaleesi? ozze kutuzikiriza? nkumanyi ggwe, ggwe oli Mutukuvu wa Katonda. 41MAR001.025 And Jesus rebuked him, saying, Hold thy peace, and come out of him. %%% Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti Bunira, muveeko. 41MAR001.026 And when the unclean spirit had torn him, and cried with a loud voice, he came out of him. %%% Dayimooni n'amutaagula n'akaaba eddoboozi ddene n'amuvaako. 41MAR001.027 And they were all amazed, insomuch that they questioned among themselves, saying, What thing is this? what new doctrine is this? for with authority commandeth he even the unclean spirits, and they do obey him. %%% Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti kiki kino? okuyigiriza kuggya! alagira n'obuyinza dayimooni ne bamuwulira. 41MAR001.028 And immediately his fame spread abroad throughout all the region round about Galilee. %%% Amangu ago ettutumu lye ne libuna ensi yonna eriraanye Ggaliraaya. 41MAR001.029 And forthwith, when they were come out of the synagogue, they entered into the house of Simon and Andrew, with James and John. %%% Amangu ago bwe baafuluma mu kkuŋŋaaniro ne bagenda wamu ne Yakobo ne Yokaana mu nnyumba ya Simooni ne Andereya. 41MAR001.030 But Simon's wife's mother lay sick of a fever, and anon they tell him of her. %%% Awo nnyina mukazi wa Simooni yali ng'agalamidde ng'alwadde omusujja; amangu ago ne bamubuulira bw'ali: 41MAR001.031 And he came and took her by the hand, and lifted her up; and immediately the fever left her, and she ministered unto them. %%% n'ajja n'amukwata ku mukono n'amugolokosa, omusujja ne gumuwonako, n'abaweereza. 41MAR001.032 And at even, when the sun did set, they brought unto him all that were diseased, and them that were possessed with devils. %%% Awo olweggulo, enjuba ng'egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abo abaliko dayimooni. 41MAR001.033 And all the city was gathered together at the door. %%% N'ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku wankaaki. 41MAR001.034 And he healed many that were sick of divers diseases, and cast out many devils; and suffered not the devils to speak, because they knew him. %%% N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba dayimooni bangi n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya. 41MAR001.035 And in the morning, rising up a great while before day, he went out, and departed into a solitary place, and there prayed. %%% Awo mu makya ennyo, nga bukyali kiro, n'agolokoka n'afuluma n'agenda mu ddungu, n'asabira eyo. 41MAR001.036 And Simon and they that were with him followed after him. %%% Simooni n'abo abaali naye ne bamugoberera; 41MAR001.037 And when they had found him, they said unto him, All men seek for thee. %%% ne bamulaba ne bamugamba nti Bonna bakunoonya. 41MAR001.038 And he said unto them, Let us go into the next towns, that I may preach there also: for therefore came I forth. %%% N'abagamba nti Tugende awalala mu bibuga ebiri okumpi mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira. 41MAR001.039 And he preached in their synagogues throughout all Galilee, and cast out devils. %%% N'ayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna, ng'abuulira ng'agoba dayimooni. 41MAR001.040 And there came a leper to him, beseeching him, and kneeling down to him, and saying unto him, If thou wilt, thou canst make me clean. %%% Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamirira ng'amugamba nti Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa. 41MAR001.041 And Jesus, moved with compassion, put forth his hand, and touched him, and saith unto him, I will; be thou clean. %%% N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti Njagala; longooka. 41MAR001.042 And as soon as he had spoken, immediately the leprosy departed from him, and he was cleansed. %%% Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka. 41MAR001.043 And he straitly charged him, and forthwith sent him away; %%% N'amukuutira nnyo amangu ago n'amusindika 41MAR001.044 And saith unto him, See thou say nothing to any man: but go thy way, shew thyself to the priest, and offer for thy cleansing those things which Moses commanded, for a testimony unto them. %%% n'amugamba nti Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyoleke eri kabona, oweeyo olw'okulongooka kwo Musa bye yalagira okuba omujulirwa gye bali. 41MAR001.045 But he went out, and began to publish it much, and to blaze abroad the matter, insomuch that Jesus could no more openly enter into the city, but was without in desert places: and they came to him from every quarter. %%% Naye n'afuluma, n'asooka okukibuulira ennyo n'okubunya ekigambo, n'okuyinza n'atayinza Yesu okuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye yali bweru mu malungu; ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna. 41MAR002.001 And again he entered into Capernaum after some days; and it was noised that he was in the house. %%% Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju. 41MAR002.002 And straightway many were gathered together, insomuch that there was no room to receive them, no, not so much as about the door: and he preached the word unto them. %%% Ne bakuŋŋaana bangi, n'okugyawo ne batagyawo nate newakubadde mu mulyango: n'ababuulira ekigambo. 41MAR002.003 And they come unto him, bringing one sick of the palsy, which was borne of four. %%% Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse bana. 41MAR002.004 And when they could not come nigh unto him for the press, they uncovered the roof where he was: and when they had broken it up, they let down the bed wherein the sick of the palsy lay. %%% Naye bwe baalemwa okumusemberera olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali: ne bawummulawo ekituli ne bamussiza ku kitanda akoozimbye kwe yali agalamidde. 41MAR002.005 When Jesus saw their faith, he said unto the sick of the palsy, Son, thy sins be forgiven thee. %%% Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti Mwana wange, ebibi byo bikuggiddwako. 41MAR002.006 But there were certain of the scribes sitting there, and reasoning in their hearts, %%% Naye waaliwo abawandiisi abamu nga batudde nga balowooza mu mitima gyabwe nti 41MAR002.007 Why doth this man thus speak blasphemies? who can forgive sins but God only? %%% Ono kiki ekimwogeza bw'atyo? Awoola: ani ayinza okuggyako ebibi wabula omu, ye Katonda? 41MAR002.008 And immediately when Jesus perceived in his spirit that they so reasoned within themselves, he said unto them, Why reason ye these things in your hearts? %%% Amangu ago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga balowooza bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti Kiki ekibalowoozesa ebyo mu mitima gyammwe? 41MAR002.009 Whether is it easier to say to the sick of the palsy, Thy sins be forgiven thee; or to say, Arise, and take up thy bed, and walk? %%% Ekyangu kiruwa, okugamba akoozimbye nti Ebibi byo bikuggiddwako; nantiki okugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo ogende? 41MAR002.010 But that ye may know that the Son of man hath power on earth to forgive sins, (he saith to the sick of the palsy,) %%% Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi n'agamba akoozimbye nti 41MAR002.011 I say unto thee, Arise, and take up thy bed, and go thy way into thine house. %%% Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo. 41MAR002.012 And immediately he arose, took up the bed, and went forth before them all; insomuch that they were all amazed, and glorified God, saying, We never saw it on this fashion. %%% N'agolokoka, ne yeetikka amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maaso gaabwe bonna; awo ne beewuunya bonna ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Tetulabangako bwe tuti. 41MAR002.013 And he went forth again by the sea side; and all the multitude resorted unto him, and he taught them. %%% N'avaawo nate n'agenda ku lubalama lw'ennyanja; ebibiina byonna ne bajja w'ali, n'abayigiriza. 41MAR002.014 And as he passed by, he saw Levi the son of Alphaeus sitting at the receipt of custom, and said unto him, Follow me. And he arose and followed him. %%% Awo bwe yali ng'ayita, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka n'ayita naye. 41MAR002.015 And it came to pass, that, as Jesus sat at meat in his house, many publicans and sinners sat also together with Jesus and his disciples: for there were many, and they followed him. %%% Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba y'oyo ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be; kubanga baali bangi, abaagenda naye. 41MAR002.016 And when the scribes and Pharisees saw him eat with publicans and sinners, they said unto his disciples, How is it that he eateth and drinketh with publicans and sinners? %%% Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba ng'alya wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti Alya era anywera wamu n'abawooza n'abalina ebibi. 41MAR002.017 When Jesus heard it, he saith unto them, They that are whole have no need of the physician, but they that are sick: I came not to call the righteous, but sinners to repentance. %%% Awo Yesu bwe yawulira n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde: sajja kuyita batuukiriru wabula abalina ebibi. 41MAR002.018 And the disciples of John and of the Pharisees used to fast: and they come and say unto him, Why do the disciples of John and of the Pharisees fast, but thy disciples fast not? %%% Awo abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamugamba nti Kiki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo ekibasiibya, abayigirizwa bo nga tebasiiba? 41MAR002.019 And Jesus said unto them, Can the children of the bridechamber fast, while the bridegroom is with them? as long as they have the bridegroom with them, they cannot fast. %%% Yesu n'abagamba nti Abaana b'obugole bayinza batya okusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? mu biro byonna nga bali naye awasizza omugole, tebayinza kusiiba. 41MAR002.020 But the days will come, when the bridegroom shall be taken away from them, and then shall they fast in those days. %%% Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibaggibwako: ne balyoka basiiba ku lunaku olwo. 41MAR002.021 No man also seweth a piece of new cloth on an old garment: else the new piece that filled it up taketh away from the old, and the rent is made worse. %%% Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bwe kiba kityo kiri eky’oku kizibawo kikutula kiri, ekikadde ekiggya, ekituli ne kyeyongera. 41MAR002.022 And no man putteth new wine into old bottles: else the new wine doth burst the bottles, and the wine is spilled, and the bottles will be marred: but new wine must be put into new bottles. %%% Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge ne gufaafaagana n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya. 41MAR002.023 And it came to pass, that he went through the corn fields on the sabbath day; and his disciples began, as they went, to pluck the ears of corn. %%% Awo olwatuuka yali ng'atambula mu nnimiro ku lunaku lwa ssabbiiti; abayigirizwa be ne batanula okugenda nga banoga ebirimba. 41MAR002.024 And the Pharisees said unto him, Behold, why do they on the sabbath day that which is not lawful? %%% Abafalisaayo ne bamugamba nti Laba, kiki ekibakoza eky'omuzizo ku lunaku lwa ssabbiiti? 41MAR002.025 And he said unto them, Have ye never read what David did, when he had need, and was an hungred, he, and they that were with him? %%% N'abagamba nti Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo? 41MAR002.026 How he went into the house of God in the days of Abiathar the high priest, and did eat the shewbread, which is not lawful to eat but for the priests, and gave also to them which were with him? %%% Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo? 41MAR002.027 And he said unto them, The sabbath was made for man, and not man for the sabbath: %%% N'abagamba nti Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti: 41MAR002.028 Therefore the Son of man is Lord also of the sabbath. %%% bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti nayo. 41MAR003.001 And he entered again into the synagogue; and there was a man there which had a withered hand. %%% N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro; mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze. 41MAR003.002 And they watched him, whether he would heal him on the sabbath day; that they might accuse him. %%% Ne bamulabirira oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, era bamuloope. 41MAR003.003 And he saith unto the man which had the withered hand, Stand forth. %%% N'agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti Yimirira wakati awo. 41MAR003.004 And he saith unto them, Is it lawful to do good on the sabbath days, or to do evil? to save life, or to kill? But they held their peace. %%% Awo n'abagamba nti Kye kirungi ku lunaku lwa ssabbiiti okukola obulungi nantiki okukola obubi? kuwonya bulamu naatiki kutta? Naye ne basirika busirisi. 41MAR003.005 And when he had looked round about on them with anger, being grieved for the hardness of their hearts, he saith unto the man, Stretch forth thine hand. And he stretched it out: and his hand was restored whole as the other. %%% Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'okukakaayala kw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu ati Golola omukono gwo. N'agugolola: omukono gwe ne guwona. 41MAR003.006 And the Pharisees went forth, and straightway took counsel with the Herodians against him, how they might destroy him. %%% Amangu ago Abafalisaayo ne bavaamu ne bateesa n'Abakerodiyaani ku ye, nga bwe banaamuzikiriza. 41MAR003.007 But Jesus withdrew himself with his disciples to the sea: and a great multitude from Galilee followed him, and from Judaea, %%% Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ebibiina bingi ne bimugoberera ebyava e Ggaliraaya n'e Buyudaaya 41MAR003.008 And from Jerusalem, and from Idumaea, and from beyond Jordan; and they about Tyre and Sidon, a great multitude, when they had heard what great things he did, came unto him. %%% e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'abaliraanye e Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali. 41MAR003.009 And he spake to his disciples, that a small ship should wait on him because of the multitude, lest they should throng him. %%% N'agamba abayigirizwa be eryato ettono limubeerenga kumpi ebibiina bireme okumunyigiriza; 41MAR003.010 For he had healed many; insomuch that they pressed upon him for to touch him, as many as had plagues. %%% kubanga yawonya bangi, n'okugwa abalwadde ne bamugwako bamukwateko, bonna abaali balina ebibonoobono. 41MAR003.011 And unclean spirits, when they saw him, fell down before him, and cried, saying, Thou art the Son of God. %%% Dayimooni ababi nabo bwe baamulaba ne bagwa mu maaso ge ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe Mwana wa Katonda. 41MAR003.012 And he straitly charged them that they should not make him known. %%% N'abakuutira nnyo baleme okumwatiikiriza. 41MAR003.013 And he goeth up into a mountain, and calleth unto him whom he would: and they came unto him. %%% Awo n'alinnya ku lusozi n'abayita gy'ali b'ayagala: ne bagenda gy'ali. 41MAR003.014 And he ordained twelve, that they should be with him, and that he might send them forth to preach, %%% N'ayawulamu ekkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira, 41MAR003.015 And to have power to heal sicknesses, and to cast out devils: %%% n'okuba n'obuyinza okugobanga emizimu: 41MAR003.016 And Simon he surnamed Peter; %%% Simooni n'amutuuma erinnya Peetero; 41MAR003.017 And James the son of Zebedee, and John the brother of James; and he surnamed them Boanerges, which is, The sons of thunder: %%% ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo; nabo n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti Baana ba kubwatuka: 41MAR003.018 And Andrew, and Philip, and Bartholomew, and Matthew, and Thomas, and James the son of Alphaeus, and Thaddaeus, and Simon the Canaanite, %%% ne Andereya ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo, ne Simooni Omukananaayo, 41MAR003.019 And Judas Iscariot, which also betrayed him: and they went into an house. %%% ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. N'ajja mu nnyumba, 41MAR003.020 And the multitude cometh together again, so that they could not so much as eat bread. %%% ekibiina ne kikuŋŋaana nate, n'okuyinza ne batayinza na kulya mmere. 41MAR003.021 And when his friends heard of it, they went out to lay hold on him: for they said, He is beside himself. %%% Awo ababe bwe baawulira ne bafuluma okumukwata, kubanga baagamba nti Alaluse. 41MAR003.022 And the scribes which came down from Jerusalem said, He hath Beelzebub, and by the prince of the devils casteth he out devils. %%% Awo abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti Alina Beeruzebuli, era nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa badayimooni. 41MAR003.023 And he called them unto him, and said unto them in parables, How can Satan cast out Satan? %%% N'abayita gy'ali, n'abagambira mu ngero nti Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 41MAR003.024 And if a kingdom be divided against itself, that kingdom cannot stand. %%% Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwokka, obwakabaka obwo tebuyinza kuyimirira. 41MAR003.025 And if a house be divided against itself, that house cannot stand. %%% N'ennyumba bw'eyawukanamu yo yokka, ennyumba eyo teriyinza kuyimirira. 41MAR003.026 And if Satan rise up against himself, and be divided, he cannot stand, but hath an end. %%% Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, naye aggwaawo. 41MAR003.027 No man can enter into a strong man's house, and spoil his goods, except he will first bind the strong man; and then he will spoil his house. %%% Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye. 41MAR003.028 Verily I say unto you, All sins shall be forgiven unto the sons of men, and blasphemies wherewith soever they shall blaspheme: %%% Mazima mbagamba nti Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibi byabwe byonna, n'obuvvoozi bwabwe bwe balivvoola bwonna; 41MAR003.029 But he that shall blaspheme against the Holy Ghost hath never forgiveness, but is in danger of eternal damnation: %%% naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe: 41MAR003.030 Because they said, He hath an unclean spirit. %%% kubanga baayogera nti Alina dayimooni. 41MAR003.031 There came then his brethren and his mother, and, standing without, sent unto him, calling him. %%% Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru. 41MAR003.032 And the multitude sat about him, and they said unto him, Behold, thy mother and thy brethren without seek for thee. %%% N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru bakunoonya. 41MAR003.033 And he answered them, saying, Who is my mother, or my brethren? %%% N'abaddamu ng'agamba nti Mmange ye ani ne baganda bange? 41MAR003.034 And he looked round about on them which sat about him, and said, Behold my mother and my brethren! %%% n'abeetoolooza amaaso abaali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange! 41MAR003.035 For whosoever shall do the will of God, the same is my brother, and my sister, and mother. %%% Kubanga buli muntu yenna anaakolanga Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange. 41MAR004.001 And he began again to teach by the sea side: and there was gathered unto him a great multitude, so that he entered into a ship, and sat in the sea; and the whole multitude was by the sea on the land. %%% Ate n'atanula okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu nnyanja; ekibiina kyonna ne kibeera ku nnyanja ku ttale. 41MAR004.002 And he taught them many things by parables, and said unto them in his doctrine, %%% N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti 41MAR004.003 Hearken; Behold, there went out a sower to sow: %%% Muwulire; laba, omusizi yafuluma okusiga: 41MAR004.004 And it came to pass, as he sowed, some fell by the way side, and the fowls of the air came and devoured it up. %%% awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. 41MAR004.005 And some fell on stony ground, where it had not much earth; and immediately it sprang up, because it had no depth of earth: %%% N'endala ne zigwa awali enjazi awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu: 41MAR004.006 But when the sun was up, it was scorched; and because it had no root, it withered away. %%% enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. 41MAR004.007 And some fell among thorns, and the thorns grew up, and choked it, and it yielded no fruit. %%% Endala ne zigwa awali amaggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala. 41MAR004.008 And other fell on good ground, and did yield fruit that sprang up and increased; and brought forth, some thirty, and some sixty, and some an hundred. %%% Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa amakumi asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi. 41MAR004.009 And he said unto them, He that hath ears to hear, let him hear. %%% N'agamba nti Alina amatu ag'okuwulira, awulire: 41MAR004.010 And when he was alone, they that were about him with the twelve asked of him the parable. %%% Awo bwe yali yekka, abo abaali bamwetoolodde n'ekkumi n'ababiri ne bamubuuza ku ngero ezo. 41MAR004.011 And he said unto them, Unto you it is given to know the mystery of the kingdom of God: but unto them that are without, all these things are done in parables: %%% N'abagamba nti Mmwe mwaweebwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda: naye bali ab'ebweru, byonna bibabeerera mu ngero: 41MAR004.012 That seeing they may see, and not perceive; and hearing they may hear, and not understand; lest at any time they should be converted, and their sins should be forgiven them. %%% bwe balaba balabe, ne bateetegereza; era bwe bawulira bawulire, ne batategeera; mpozzi baleme okukyuka nate, okusonyiyibwa. 41MAR004.013 And he said unto them, Know ye not this parable? and how then will ye know all parables? %%% N'abagamba nti Temumanyi lugero luno? kale mulitegeera mutya engero zonna? 41MAR004.014 The sower soweth the word. %%% Omusizi asiga kigambo. 41MAR004.015 And these are they by the way side, where the word is sown; but when they have heard, Satan cometh immediately, and taketh away the word that was sown in their hearts. %%% Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangu ago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo. 41MAR004.016 And these are they likewise which are sown on stony ground; who, when they have heard the word, immediately receive it with gladness; %%% Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali enjazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangu ago bakikkiriza n'essanyu; 41MAR004.017 And have no root in themselves, and so endure but for a time: afterward, when affliction or persecution ariseth for the word's sake, immediately they are offended. %%% ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago beesittala. 41MAR004.018 And these are they which are sown among thorns; such as hear the word, %%% N'abalala be bali abasigibwa awali amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo, 41MAR004.019 And the cares of this world, and the deceitfulness of riches, and the lusts of other things entering in, choke the word, and it becometh unfruitful. %%% awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala; 41MAR004.020 And these are they which are sown on good ground; such as hear the word, and receive it, and bring forth fruit, some thirtyfold, some sixty, and some an hundred. %%% n'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala amakumi asatu, n'enkaaga, n'ekikumi. 41MAR004.021 And he said unto them, Is a candle brought to be put under a bushel, or under a bed? and not to be set on a candlestick? %%% N'abagamba nti Ettabaaza ereetebwa okuteekebwa munda w'ekibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo? 41MAR004.022 For there is nothing hid, which shall not be manifested; neither was any thing kept secret, but that it should come abroad. %%% Kubanga tewali kikwekebwa, naye kirimanyibwa; newakubadde ekyakisibwa, naye kirirabika lwatu. 41MAR004.023 If any man have ears to hear, let him hear. %%% Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire. 41MAR004.024 And he said unto them, Take heed what ye hear: with what measure ye mete, it shall be measured to you: and unto you that hear shall more be given. %%% N'abagamba nti Mwekuume kye muwulira: mu kigera mwe mugera nammwe mwe muligererwa: era mulyongerwako. 41MAR004.025 For he that hath, to him shall be given: and he that hath not, from him shall be taken even that which he hath. %%% Kubanga, alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo ky'ali nakyo. 41MAR004.026 And he said, So is the kingdom of God, as if a man should cast seed into the ground; %%% N'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe buti, ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka; 41MAR004.027 And should sleep, and rise night and day, and the seed should spring and grow up, he knoweth not how. %%% ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse. 41MAR004.028 For the earth bringeth forth fruit of herself; first the blade, then the ear, after that the full corn in the ear. %%% Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba. 41MAR004.029 But when the fruit is brought forth, immediately he putteth in the sickle, because the harvest is come. %%% Naye emmere bw'eyengera, amangu ago assaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse. 41MAR004.030 And he said, Whereunto shall we liken the kingdom of God? or with what comparison shall we compare it? %%% N'agamba nti Tunaabufaananya tutya obwakabaka bwa Katonda? Nantiki tunaabunnyonnyolera ku kifaananyi ki? 41MAR004.031 It is like a grain of mustard seed, which, when it is sown in the earth, is less than all the seeds that be in the earth: %%% Bufaanana ng'akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi, 41MAR004.032 But when it is sown, it groweth up, and becometh greater than all herbs, and shooteth out great branches; so that the fowls of the air may lodge under the shadow of it. %%% naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene kale era ennyonyi ez'omu bbanga ne ziyinza okutuula wansi w'ekisiikirize kyagwo. 41MAR004.033 And with many such parables spake he the word unto them, as they were able to hear it. %%% N'abagamba ekigambo mu ngeri nnyingi ng'ezo, nga bwe bayinza okukiwulira: 41MAR004.034 But without a parable spake he not unto them: and when they were alone, he expounded all things to his disciples. %%% teyayogera nabo awatali lugero: naye n'ategeezanga abayigirizwa be ye byonna mu kyama. 41MAR004.035 And the same day, when the even was come, he saith unto them, Let us pass over unto the other side. %%% Awo ku lunaku olwo bwe bwali buwungedde, n'abagamba nti Tuwunguke tutuuke emitala w'eri, 41MAR004.036 And when they had sent away the multitude, they took him even as he was in the ship. And there were also with him other little ships. %%% Bwe baaleka ekibiina, ne bamutwalira mu lyato, nga bwe yali, Era n'amaato amalala gaali naye. 41MAR004.037 And there arose a great storm of wind, and the waves beat into the ship, so that it was now full. %%% Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato lyali nga ligenda okujjula. 41MAR004.038 And he was in the hinder part of the ship, asleep on a pillow: and they awake him, and say unto him, Master, carest thou not that we perish? %%% Ye yennyini yali yeebase mu kiwenda ku kigugu, ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti Omuyigiriza, tofaayo nga tufa? 41MAR004.039 And he arose, and rebuked the wind, and said unto the sea, Peace, be still. And the wind ceased, and there was a great calm. %%% N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti Sirika, teeka. Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo. 41MAR004.040 And he said unto them, Why are ye so fearful? how is it that ye have no faith? %%% N'abagamba nti Kiki ekibatiisa? Temunnaba kuba na kukkiriza? 41MAR004.041 And they feared exceedingly, and said one to another, What manner of man is this, that even the wind and the sea obey him? %%% Ne batya entiisa nnene, ne bagambagana nti Kale ono ye ani, kubanga omuyaga n'ennyanja bimuwulira? 41MAR005.001 And they came over unto the other side of the sea, into the country of the Gadarenes. %%% Ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasene. 41MAR005.002 And when he was come out of the ship, immediately there met him out of the tombs a man with an unclean spirit, %%% Bwe yava mu lyato, amangu ago omuntu eyaliko dayimooni eyava mu ntaana n'amusisinkana, 41MAR005.003 Who had his dwelling among the tombs; and no man could bind him, no, not with chains: %%% eyasulanga mu ntaana; nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegeregere, 41MAR005.004 Because that he had been often bound with fetters and chains, and the chains had been plucked asunder by him, and the fetters broken in pieces: neither could any man tame him. %%% kubanga emirundi mingi yateekebwako mu masamba, ne mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya: ne wataba muntu wa maanyi okumusobola. 41MAR005.005 And always, night and day, he was in the mountains, and in the tombs, crying, and cutting himself with stones. %%% Naye bulijjo, ekiro n'emisana, yakaabiranga mu ntaana ne ku nsozi, ne yeesala n'amayinja. 41MAR005.006 But when he saw Jesus afar off, he ran and worshipped him, %%% Bwe yalengera Yesu ng'akyali wala, n'addukana n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene 41MAR005.007 And cried with a loud voice, and said, What have I to do with thee, Jesus, thou Son of the most high God? I adjure thee by God, that thou torment me not. %%% ng'agamba nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waggulu ennyo? Nkulayiza Katonda, tombonereza. 41MAR005.008 For he said unto him, Come out of the man, thou unclean spirit. %%% Kubanga yamugamba nti Va ku muntu ono, ggwe dayimooni. 41MAR005.009 And he asked him, What is thy name? And he answered, saying, My name is Legion: for we are many. %%% N'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'amugamba nti Erinnya lyange Liigyoni; kubanga tuli bangi. 41MAR005.010 And he besought him much that he would not send them away out of the country. %%% N'amwegayirira nnyo aleme okubagoba mu nsi eyo. 41MAR005.011 Now there was there nigh unto the mountains a great herd of swine feeding. %%% Awo ku lusozi waaliwo eggana ly'embizzi ddene nga zirya. 41MAR005.012 And all the devils besought him, saying, Send us into the swine, that we may enter into them. %%% N'amwegayirira, ng'amugamba nti Tusindike mu mbizzi tuziyingiremu. 41MAR005.013 And forthwith Jesus gave them leave. And the unclean spirits went out, and entered into the swine: and the herd ran violently down a steep place into the sea, (they were about two thousand;) and were choked in the sea. %%% N'amukkiriza, Dayimooni n'avaamu, n'ayingira mu mbizzi: eggana ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga mu nnyanja, zaali nga nkumi bbiri, ne zifiira mu nnyanja. 41MAR005.014 And they that fed the swine fled, and told it in the city, and in the country. And they went out to see what it was that was done. %%% Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo, ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri. 41MAR005.015 And they come to Jesus, and see him that was possessed with the devil, and had the legion, sitting, and clothed, and in his right mind: and they were afraid. %%% Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko dayimooni ng'atudde, ng'ayambadde nga alina amagezi, oyo eyaliko liigyoni; ne batya. 41MAR005.016 And they that saw it told them how it befell to him that was possessed with the devil, and also concerning the swine. %%% Abaalaba ne babannyonnyola ebimubaddeko oyo eyaliko dayinooni, era n'eby'embizzi. 41MAR005.017 And they began to pray him to depart out of their coasts. %%% Ne batanula okumwegayirira okuva mu nsalo zaabwe. 41MAR005.018 And when he was come into the ship, he that had been possessed with the devil prayed him that he might be with him. %%% Awo bwe yali ng'asaabala mu lyato, oyo eyaliko dayimooni n'amwegayirira abeere naye. 41MAR005.019 Howbeit Jesus suffered him not, but saith unto him, Go home to thy friends, and tell them how great things the Lord hath done for thee, and hath had compassion on thee. %%% N'atamuganya, naye yamugamba nti Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde. 41MAR005.020 And he departed, and began to publish in Decapolis how great things Jesus had done for him: and all men did marvel. %%% N'agenda, n'atanula okubuulira mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya. 41MAR005.021 And when Jesus was passed over again by ship unto the other side, much people gathered unto him: and he was nigh unto the sea. %%% Awo Yesu bwe yawunguka ate mu lyato n'atuuka emitala, bibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali; ye ng'ali kumpi n'ennyanja. 41MAR005.022 And, behold, there cometh one of the rulers of the synagogue, Jairus by name; and when he saw him, he fell at his feet, %%% Omu ow'oku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, erinnya lye Yayiro, n'ajja; bwe yamulaba, n'avuunama ku bigere bye, 41MAR005.023 And besought him greatly, saying, My little daughter lieth at the point of death: I pray thee, come and lay thy hands on her, that she may be healed; and she shall live. %%% n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti Omuwala wange omuto ali kumpi n'okufa: nkwegayirira ojje, omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke. 41MAR005.024 And Jesus went with him; and much people followed him, and thronged him. %%% N'agenda naye; ekibiina ekinene ne kimugoberera, ne bamunyigiriza. 41MAR005.025 And a certain woman, which had an issue of blood twelve years, %%% Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, 41MAR005.026 And had suffered many things of many physicians, and had spent all that she had, and was nothing bettered, but rather grew worse, %%% eyatengejja ennyo eri abasawo abangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala, 41MAR005.027 When she had heard of Jesus, came in the press behind, and touched his garment. %%% bwe yawulira ebigambo bya Yesu, n'ajjira mu kibiina emabega we n’akoma ku kyambalo kye. 41MAR005.028 For she said, If I may touch but his clothes, I shall be whole. %%% Kubanga yagamba nti Bwe nkomako obukomi ku byambalo bye, nnaawona. 41MAR005.029 And straightway the fountain of her blood was dried up; and she felt in her body that she was healed of that plague. %%% Amangu ago ensulo ey'omusaayi n'ekalira, n'ategeera mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa ekibonoobono kye. 41MAR005.030 And Jesus, immediately knowing in himself that virtue had gone out of him, turned him about in the press, and said, Who touched my clothes? %%% Amangu ago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'agamba nti Ani akomye ku byambalo byange? 41MAR005.031 And his disciples said unto him, Thou seest the multitude thronging thee, and sayest thou, Who touched me? %%% Abayigirizwa be ne bamugamba nti Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, n'ogamba nti Ani ankomyeko? 41MAR005.032 And he looked round about to see her that had done this thing. %%% Ne yeetoolooza amaaso okulaba oyo akoze ekigambo ekyo. 41MAR005.033 But the woman fearing and trembling, knowing what was done in her, came and fell down before him, and told him all the truth. %%% Naye omukazi ng'atya ng'akankana, ng'amanyi ky'abadde, n'ajja n'afukamira mu maaso ge, n'amubuulira eby'amazima byonna. 41MAR005.034 And he said unto her, Daughter, thy faith hath made thee whole; go in peace, and be whole of thy plague. %%% N'amugamba nti Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; weegendere n'emirembe, owonere ddala ekibonoobono kyo. 41MAR005.035 While he yet spake, there came from the ruler of the synagogue's house certain which said, Thy daughter is dead: why troublest thou the Master any further? %%% Awo bwe yali akyayogera, abaava ew'omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bajja, nga bagamba nti Omuwala wo afudde; oteganyiza ki nate Omuyigiriza? 41MAR005.036 As soon as Jesus heard the word that was spoken, he saith unto the ruler of the synagogue, Be not afraid, only believe. %%% Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku kigambo ekyogeddwa, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti Totya, kkiriza bukkiriza. 41MAR005.037 And he suffered no man to follow him, save Peter, and James, and John the brother of James. %%% N'ataganya muntu kugenda naye wabula Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo. 41MAR005.038 And he cometh to the house of the ruler of the synagogue, and seeth the tumult, and them that wept and wailed greatly. %%% Ne batuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'alaba okwaziirana, n'abakaaba, n'abakuba ebiwoobe ebingi. 41MAR005.039 And when he was come in, he saith unto them, Why make ye this ado, and weep? the damsel is not dead, but sleepeth., %%% Awo bwe yayingira n'abagamba nti Kiki ekibaaziiranya n'ekibakaabya? omuwala tafudde, naye yeebase bwebasi. 41MAR005.040 And they laughed him to scorn. But when he had put them all out, he taketh the father and the mother of the damsel, and them that were with him, and entereth in where the damsel was lying. %%% Ne bamusekerera nnyo. Naye bwe yabafulumya bonna, n'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abo abaali naye, n'ayingira omuwala mw'ali. 41MAR005.041 And he took the damsel by the hand, and said unto her, Talitha cumi; which is, being interpreted, Damsel, I say unto thee, arise. %%% Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti Talusa kumi okutegeezebwa kwakyo nti muwala, nkugamba nti Golokoka. 41MAR005.042 And straightway the damsel arose, and walked; for she was of the age of twelve years. And they were astonished with a great astonishment. %%% Amangu ago omuwala n'agolokoka, n'atambula; kubanga yali yaakamala emyaka kkumi n'ebiri. Amangu ago ne bawuniikirira okuwuniikirira kunene. 41MAR005.043 And he charged them straitly that no man should know it; and commanded that something should be given her to eat. %%% N'abakuutira nnyo buli muntu yenna aleme okukimaaya ekyo: n'alagira okumuwa eky'okulya. 41MAR006.001 And he went out from thence, and came into his own country; and his disciples follow him. %%% N'avaayo; n'ajja mu nsi y'ewaabwe; abayigirizwa be ne bagenda naye. 41MAR006.002 And when the sabbath day was come, he began to teach in the synagogue: and many hearing him were astonished, saying, From whence hath this man these things? and what wisdom is this which is given unto him, that even such mighty works are wrought by his hands? %%% Awo ssabbiiti bwe yatuuka, n'atanula okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro: abangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, nga bagamba nti Ono ebyo yabiggya wa? era nti Magezi ki gano ge yaweebwa ono, era eby'amagero ebyenkanidde wano ebikolebwa mu mikono gye? 41MAR006.003 Is not this the carpenter, the son of Mary, the brother of James, and Joses, and of Juda, and Simon? and are not his sisters here with us? And they were offended at him. %%% Si ye wuuno omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetuli nabo wano ewaffe? Ne bamwesittalako. 41MAR006.004 But Jesus said unto them, A prophet is not without honour, but in his own country, and among his own kin, and in his own house. %%% Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi yaabo, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye. 41MAR006.005 And he could there do no mighty work, save that he laid his hands upon a few sick folk, and healed them. %%% So teyayinza kukolerayo kya magero kyonna, naye yassa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya. 41MAR006.006 And he marvelled because of their unbelief. And he went round about the villages, teaching. %%% Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe. Ne yeetooloola mu mbuga enjuyi zonna ng'ayigiriza. 41MAR006.007 And he called unto him the twelve, and began to send them forth by two and two; and gave them power over unclean spirits; %%% N'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atanula okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku dayimooni; 41MAR006.008 And commanded them that they should take nothing for their journey, save a staff only; no scrip, no bread, no money in their purse: %%% n'abalagira obutatwala kintu kya mu kkubo wabula omuggo gwokka; si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ebikomo mu nkoba zaabwe, 41MAR006.009 But be shod with sandals; and not put on two coats. %%% naye nga banaanise engatto; era temwambalanga kkanzu bbiri. 41MAR006.010 And he said unto them, In what place soever ye enter into an house, there abide till ye depart from that place. %%% N'abagamba nti Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 41MAR006.011 And whosoever shall not receive you, nor hear you, when ye depart thence, shake off the dust under your feet for a testimony against them. Verily I say unto you, It shall be more tolerable for Sodom and Gomorrha in the day of judgment, than for that city. %%% Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, obutabawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gye bali. 41MAR006.012 And they went out, and preached that men should repent. %%% Ne bagenda ne babuulira abantu okwenenya. 41MAR006.013 And they cast out many devils, and anointed with oil many that were sick, and healed them. %%% Ne bagoba dayimooni mungi; ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya. 41MAR006.014 And king Herod heard of him; (for his name was spread abroad:) and he said, That John the Baptist was risen from the dead, and therefore mighty works do shew forth themselves in him. %%% Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lye lyatiikiridde; n'agamba nti Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye. 41MAR006.015 Others said, That it is Elias. And others said, That it is a prophet, or as one of the prophets. %%% Naye abalala ne bagamba nti Ye Eriya. Abalala ne bagamba nti Nnabbi, ng'omu ku bannabbi. 41MAR006.016 But when Herod heard thereof, he said, It is John, whom I beheaded: he is risen from the dead. %%% Naye Kerode, bwe yawulira n'agamba nti Yokaana gwe nnatemako omutwe nze, ye azuukidde. 41MAR006.017 For Herod himself had sent forth and laid hold upon John, and bound him in prison for Herodias' sake, his brother Philip's wife: for he had married her. %%% Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba n'amussa mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo: kubanga yamuwasa. 41MAR006.018 For John had said unto Herod, It is not lawful for thee to have thy brother's wife. %%% Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti Kya muzizo ggwe okubeera ne mukazi wa muganda wo. 41MAR006.019 Therefore Herodias had a quarrel against him, and would have killed him; but she could not: %%% Ne Kerodiya kyeyava amuwerera n'ayagala okumutta, n'atayinza; 41MAR006.020 For Herod feared John, knowing that he was a just man and an holy, and observed him; and when he heard him, he did many things, and heard him gladly. %%% kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga mutuukirivu mutukuvu, n'amwerinda. Yayagalanga nnyo okuwulira by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola. 41MAR006.021 And when a convenient day was come, that Herod on his birthday made a supper to his lords, high captains, and chief estates of Galilee; %%% Awo olunaku olulungi bwe lwatuuka, Kerode lwe yafumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'okuzaalibwa kwe, n'abakulu ba sserikale, n'abaami ab'e Ggaliraaya: 41MAR006.022 And when the daughter of the said Herodias came in, and danced, and pleased Herod and them that sat with him, the king said unto the damsel, Ask of me whatsoever thou wilt, and I will give it thee. %%% awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa. 41MAR006.023 And he sware unto her, Whatsoever thou shalt ask of me, I will give it thee, unto the half of my kingdom. %%% N'amulayirira nti Kyonna kyonna ky'ononsaba, nnaakikuwa, newakubadde ekitundu eky'obwakabaka bwange. 41MAR006.024 And she went forth, and said unto her mother, What shall I ask? And she said, The head of John the Baptist. %%% Awo n'afuluma, n'agamba nnyina nti Nnaasaba ki? N'agamba nti Omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 41MAR006.025 And she came in straightway with haste unto the king, and asked, saying, I will that thou give me by and by in a charger the head of John the Baptist. %%% Amangu ago n'ayanguwako n'ajja eri kabaka, n'asaba, ng'agamba nti Njagala ompeere kaakano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 41MAR006.026 And the king was exceeding sorry; yet for his oath's sake, and for their sakes which sat with him, he would not reject her. %%% Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya, n’atayagala kumumma. 41MAR006.027 And immediately the king sent an executioner, and commanded his head to be brought: and he went and beheaded him in the prison, %%% Amangu ago kabaka n'atuma sserikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwe; n'agenda n'amutemerako omutwe mu kkomera, 41MAR006.028 And brought his head in a charger, and gave it to the damsel: and the damsel gave it to her mother. %%% n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina. 41MAR006.029 And when his disciples heard of it, they came and took up his corpse, and laid it in a tomb. %%% Awo abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguteeka mu ntaana. 41MAR006.030 And the apostles gathered themselves together unto Jesus, and told him all things, both what they had done, and what they had taught. %%% Abatume ne bakuŋŋaanira awali Yesu; ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza. 41MAR006.031 And he said unto them, Come ye yourselves apart into a desert place, and rest a while: for there were many coming and going, and they had no leisure so much as to eat. %%% N'abagamba nti Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono. Kubanga waaliwo bangi abajja n'abagenda, so ne bataba na bbanga newakubadde aw'okuliira. 41MAR006.032 And they departed into a desert place by ship privately. %%% Ne bagendera mu lyato kyama mu kifo eteri bantu. 41MAR006.033 And the people saw them departing, and many knew him, and ran afoot thither out of all cities, and outwent them, and came together unto him. %%% Ne babalaba nga bagenda, bangi ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne baddukana ku lukalu, ne babasookayo. 41MAR006.034 And Jesus, when he came out, saw much people, and was moved with compassion toward them, because they were as sheep not having a shepherd: and he began to teach them many things. %%% Bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba; n'atanula okubayigiriza ebigambo bingi. 41MAR006.035 And when the day was now far spent, his disciples came unto him, and said, This is a desert place, and now the time is far passed: %%% Awo obudde bwe bwali buyise, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Ekifo kino kya ddungu, ne kaakano obudde buyise: 41MAR006.036 Send them away, that they may go into the country round about, and into the villages, and buy themselves bread: for they have nothing to eat. %%% basiibule, bagende mu byalo ne mu mbuga eby'oku njuyi zonna beegulire emmere. 41MAR006.037 He answered and said unto them, Give ye them to eat. And they say unto him, Shall we go and buy two hundred pennyworth of bread, and give them to eat? %%% Naye n'addamu, n'abagamba nti Mmwe mubawe emmere. Ne bamugamba nti Tugende tugule emigaati egy'eddinaali ebibiri tugibawe balye? 41MAR006.038 He saith unto them, How many loaves have ye? go and see. And when they knew, they say, Five, and two fishes. %%% N'abagamba nti Mulina emigaati emeka? mugende mulabe. Bwe baategeera ne bagamba nti Etaano, n'ebyennyanja bibiri. 41MAR006.039 And he commanded them to make all sit down by companies upon the green grass. %%% N'abalagira batuule bonna bibiina bibiina ku muddo. 41MAR006.040 And they sat down in ranks, by hundreds, and by fifties. %%% Ne batuula nnyiriri nnyiriri, ekikumi, n'amakumi ataano. 41MAR006.041 And when he had taken the five loaves and the two fishes, he looked up to heaven, and blessed, and brake the loaves, and gave them to his disciples to set before them; and the two fishes divided he among them all. %%% N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna. 41MAR006.042 And they did all eat, and were filled. %%% Ne balya bonna ne bakkuta. 41MAR006.043 And they took up twelve baskets full of the fragments, and of the fishes. %%% Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri, n'ebyennyanja. 41MAR006.044 And they that did eat of the loaves were about five thousand men. %%% Abo abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano. 41MAR006.045 And straightway he constrained his disciples to get into the ship, and to go to the other side before unto Bethsaida, while he sent away the people. %%% Amangu ago n'abawaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato basookeyo emitala w'eri e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina. 41MAR006.046 And when he had sent them away, he departed into a mountain to pray. %%% Awo bwe yamala okubasiibula n'agenda ku lusozi okusaba. 41MAR006.047 And when even was come, the ship was in the midst of the sea, and he alone on the land. %%% Awo bwe bwali buwungedde, eryato lyali mu nnyanja mu buziba, ye yali yekka ku lukalu. 41MAR006.048 And he saw them toiling in rowing; for the wind was contrary unto them: and about the fourth watch of the night he cometh unto them, walking upon the sea, and would have passed by them. %%% Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka eky'okuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa: 41MAR006.049 But when they saw him walking upon the sea, they supposed it had been a spirit, and cried out: %%% naye bo, bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakaaba; 41MAR006.050 For they all saw him, and were troubled. And immediately he talked with them, and saith unto them, Be of good cheer: it is I; be not afraid. %%% kubanga bonna baamulaba, ne beeraliikirira. Naye amangu ago n'ayogera nabo n'abagamba nti Mugume: nze nzuuno, temutya. 41MAR006.051 And he went up unto them into the ship; and the wind ceased: and they were sore amazed in themselves beyond measure, and wondered. %%% N'alinnya mu lyato mwe baali, omuyaga ne gufa: ne bawuniikirira nnyo munda yaabwe; 41MAR006.052 For they considered not the miracle of the loaves: for their heart was hardened. %%% kubanga eby'emigaati tebaabitegeera, naye emitima gyabwe gyali mikakanyavu. 41MAR006.053 And when they had passed over, they came into the land of Gennesaret, and drew to the shore. %%% Awo bwe baawunguka, ne bajja mu nsi ey'e Genesaleeti, ne bagoba ettale 41MAR006.054 And when they were come out of the ship, straightway they knew him, %%% Awo bwe baava mu lyato, amangu ago ne bamutegeera, 41MAR006.055 And ran through that whole region round about, and began to carry about in beds those that were sick, where they heard he was. %%% ne baddukana ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batanula okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga w'ali. 41MAR006.056 And whithersoever he entered, into villages, or cities, or country, they laid the sick in the streets, and besought him that they might touch if it were but the border of his garment: and as many as touched him were made whole. %%% Ne buli gye yagendanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, bassanga abalwadde mu butale, ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'olugoye lwe: n'abo abaamukomangako ne bawona. 41MAR007.001 Then came together unto him the Pharisees, and certain of the scribes, which came from Jerusalem. %%% Ne bakuŋŋaanira w'ali Abafalisaayo n'abawandiisi abamu abaava e Yerusaalemi, 41MAR007.002 And when they saw some of his disciples eat bread with defiled, that is to say, with unwashen, hands, they found fault. %%% era abaalaba abayigirizwa be abamu ne balya emmere yaabwe n'engalo embi, ze zitanaabiddwa. 41MAR007.003 For the Pharisees, and all the Jews, except they wash their hands oft, eat not, holding the tradition of the elders. %%% Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna bwe batanaaba nnyo mu ngalo zaabwe, tebalya, kubanga bakwata obulombolombo obw'abakadde 41MAR007.004 And when they come from the market, except they wash, they eat not. And many other things there be, which they have received to hold, as the washing of cups, and pots, brasen vessels, and of tables. %%% era bwe bava mu katale, bwe batanaaba, tebalya: era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe; n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo. 41MAR007.005 Then the Pharisees and scribes asked him, Why walk not thy disciples according to the tradition of the elders, but eat bread with unwashen hands? %%% Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti Kiki abayigirizwa bo ekibalobera okutambulira mu bulombolombo obw'abakadde, naye bamala galya emmere n'engalo embi? 41MAR007.006 He answered and said unto them, Well hath Esaias prophesied of you hypocrites, as it is written, This people honoureth me with their lips, but their heart is far from me. %%% N'abagamba nti Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, Naye emitima gyabwe gindi wala. 41MAR007.007 Howbeit in vain do they worship me, teaching for doctrines the commandments of men. %%% Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata. 41MAR007.008 For laying aside the commandment of God, ye hold the tradition of men, as the washing of pots and cups: and many other such like things ye do. %%% Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw'abantu. 41MAR007.009 And he said unto them, Full well ye reject the commandment of God, that ye may keep your own tradition. %%% N'abagamba nti Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwammwe. 41MAR007.010 For Moses said, Honour thy father and thy mother; and, Whoso curseth father or mother, let him die the death: %%% Kubanga Musa yayogera nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko; era nti Avumanga kitaawe Oba nnyina, bamuttanga bussi: 41MAR007.011 But ye say, If a man shall say to his father or mother, It is Corban, that is to say, a gift, by whatsoever thou mightest be profited by me; he shall be free. %%% naye mmwe mwogera nti Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani, ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda; 41MAR007.012 And ye suffer him no more to do ought for his father or his mother; %%% temukyamuganya okukolera ekintu kitaawe oba nnyina; 41MAR007.013 Making the word of God of none effect through your tradition, which ye have delivered: and many such like things do ye. %%% mudibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe, bwe mwayigiriza: era mukola ebigambo ebirala bingi ng'ebyo. 41MAR007.014 And when he had called all the people unto him, he said unto them, Hearken unto me every one of you, and understand: %%% Ate n'ayita ebibiina, n'abagamba nti Mumpulire mwenna, mutegeere; 41MAR007.015 There is nothing from without a man, that entering into him can defile him: but the things which come out of him, those are they that defile the man. %%% tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiwa mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu. 41MAR007.016 If any man have ears to hear, let him hear. %%% Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire. 41MAR007.017 And when he was entered into the house from the people, his disciples asked him concerning the parable. %%% Awo bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu bibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza olugero olwo. 41MAR007.018 And he saith unto them, Are ye so without understanding also? Do ye not perceive, that whatsoever thing from without entereth into the man, it cannot defile him; %%% N'abagamba nti Bwe mutyo nammwe temulina magezi? Temutegeera nga kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona; 41MAR007.019 Because it entereth not into his heart, but into the belly, and goeth out into the draught, purging all meats? %%% kubanga tekiyingira mu mutima gwe; naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kiyigo? Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna. 41MAR007.020 And he said, That which cometh out of the man, that defileth the man. %%% N'agamba nti Ekiva mu muntu; kye kyonoona omuntu. 41MAR007.021 For from within, out of the heart of men, proceed evil thoughts, adulteries, fornications, murders, %%% Kubanga munda, mu mitima gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, 41MAR007.022 Thefts, covetousness, wickedness, deceit, lasciviousness, an evil eye, blasphemy, pride, foolishness: %%% okubba, okutta, obwenzi, kwegomba: obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru; 41MAR007.023 All these evil things come from within, and defile the man. %%% ebibi ebyo byonna biva munda ne byonoona omuntu: 41MAR007.024 And from thence he arose, and went into the borders of Tyre and Sidon, and entered into an house, and would have no man know it: but he could not be hid. %%% N'agolokoka, n'avaayo n'agenda ku mbibi ez'e Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba n'atayagala muntu kutegeera, so n'atayinza kwekisa. 41MAR007.025 For a certain woman, whose young daughter had an unclean spirit, heard of him, and came and fell at his feet: %%% Naye amangu ago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye. 41MAR007.026 The woman was a Greek, a Syrophenician by nation; and she besought him that he would cast forth the devil out of her daughter. %%% Omukazi yali Muyonaani eggwanga lye mu Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we. 41MAR007.027 But Jesus said unto her, Let the children first be filled: for it is not meet to take the children's bread, and to cast it unto the dogs. %%% N'amugamba nti Leka abaana bamale okukkuta kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa. 41MAR007.028 And she answered and said unto him, Yes, Lord: yet the dogs under the table eat of the children's crumbs. %%% Naye nti naddamu n'amugamba nti Weewaawo Mukama wange n'embwa ziriira wansi w'emmeeza obukunkumuka bw'abaana. 41MAR007.029 And he said unto her, For this saying go thy way; the devil is gone out of thy daughter. %%% N'amugamba nti Olw'ekigambo ekyo, weddireyo; dayimooni avudde ku muwala wo. 41MAR007.030 And when she was come to her house, she found the devil gone out, and her daughter laid upon the bed. %%% N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko. 41MAR007.031 And again, departing from the coasts of Tyre and Sidon, he came unto the sea of Galilee, through the midst of the coasts of Decapolis. %%% Ate n'ava mu mbibi ez'e Ttuulo, n'ajja n'ayita mu Sidoni ne wakati mu mbibi ez'e Dekapoli n'atuuka ku nnyanja ey'e Ggaliraaya. 41MAR007.032 And they bring unto him one that was deaf, and had an impediment in his speech; and they beseech him to put his hand upon him. %%% Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi, ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe. 41MAR007.033 And he took him aside from the multitude, and put his fingers into his ears, and he spit, and touched his tongue; %%% N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu n'amukoma ku lulimi; 41MAR007.034 And looking up to heaven, he sighed, and saith unto him, Ephphatha, that is, Be opened. %%% n'atunula waggulu mu ggulu, n'asinda n'amugamba nti Efasa, kwe kugamba nti Zibuka. 41MAR007.035 And straightway his ears were opened, and the string of his tongue was loosed, and he spake plain. %%% Amatu ge ne gazibuka n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka n'ayogera bulungi. 41MAR007.036 And he charged them that they should tell no man: but the more he charged them, so much the more a great deal they published it; %%% N'abakuutira baleme okubuularako muntu; naye nga bwe yeeyengera okubakuutira, bwe beeyongera ennyo nnyini okukibunya. 41MAR007.037 And were beyond measure astonished, saying, He hath done all things well: he maketh both the deaf to hear, and the dumb to speak. %%% Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti Byonna akoze bulungi: aggula abaggavu b'amatu, era ayogeza abasiru. 41MAR008.001 In those days the multitude being very great, and having nothing to eat, Jesus called his disciples unto him, and saith unto them, %%% Awo mu nnaku ezo, ebibiina bwe byayinga obungi nate, ne bataba na mmere, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti 41MAR008.002 I have compassion on the multitude, because they have now been with me three days, and have nothing to eat: %%% Nsaasira ebibiina, kubanga leero ennaku ssatu nga bali nange, so tebalina mmere; 41MAR008.003 And if I send them away fasting to their own houses, they will faint by the way: for divers of them came from far. %%% bwe mbasiibula okuddayo nga basiibye enjala, banaazirikira mu kkubo; n’abamu bava wala. 41MAR008.004 And his disciples answered him, From whence can a man satisfy these men with bread here in the wilderness? %%% Abayigiriwa be ne bamuddamu nti Omuntu anaayinza atya okukkusa abantu bano emigaati wano mu ddungu? 41MAR008.005 And he asked them, How many loaves have ye? And they said, Seven. %%% N'ababuuza nti Mulina emigaati emeka? Ne bamugamba nti Musanvu. 41MAR008.006 And he commanded the people to sit down on the ground: and he took the seven loaves, and gave thanks, and brake, and gave to his disciples to set before them; and they did set them before the people. %%% N'alagira ebibiina okutuula wansi: n'addira emigaati omuanvu, ne yeebaza, n'amenyamu, n’awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina. 41MAR008.007 And they had a few small fishes: and he blessed, and commanded to set them also before them. %%% Era baali balina obw'ennyanja butono: n'abwebaza, n’alagira n'obwo okubussa mu maaso gaabwe. 41MAR008.008 So they did eat, and were filled: and they took up of the broken meat that was left seven baskets. %%% Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bwasigalawo ebisero musanvu. 41MAR008.009 And they that had eaten were about four thousand: and he sent them away. %%% Baali ng'enkumi nnya: n'abasiibula. 41MAR008.010 And straightway he entered into a ship with his disciples, and came into the parts of Dalmanutha. %%% Amangu ago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'ajja ku njuyi ez'e Dalumanusa. 41MAR008.011 And the Pharisees came forth, and began to question with him, seeking of him a sign from heaven, tempting him. %%% Abafalisaayo ne bafuluma ne bajja, ne batanula okumusokaasoka, nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema. 41MAR008.012 And he sighed deeply in his spirit, and saith, Why doth this generation seek after a sign? verily I say unto you, There shall no sign be given unto this generation. %%% N'asinda nnyo mu mwoyo gwe, n’agamba nti ab'Emirembe gino banooyeza ki akabonero? mazima mbagamba nti ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero. 41MAR008.013 And he left them, and entering into the ship again departed to the other side. %%% N'abaleka, n'asaabala nate n'agenda emitala w'eri. 41MAR008.014 Now the disciples had forgotten to take bread, neither had they in the ship with them more than one loaf. %%% Awo ne beerabira okutwala emigaati, so tebaali nagyo mu lyato wabula omugaati gumu. 41MAR008.015 And he charged them, saying, Take heed, beware of the leaven of the Pharisees, and of the leaven of Herod. %%% N'aakuutira ng'agamba nti Munywere, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n’ekizimbulukusa kya Kerode. 41MAR008.016 And they reasoned among themselves, saying, It is because we have no bread. %%% Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Tetulina migaati. 41MAR008.017 And when Jesus knew it, he saith unto them, Why reason ye, because ye have no bread? perceive ye not yet, neither understand? have ye your heart yet hardened? %%% Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? temunnalaba, so temutegeera? emitima gyammwe mikakayavu? 41MAR008.018 Having eyes, see ye not? and having ears, hear ye not? and do ye not remember? %%% Mulina amaaso, temulaba? mulina amatu, temuwulira? temujjukira? 41MAR008.019 When I brake the five loaves among five thousand, how many baskets full of fragments took ye up? They say unto him, Twelve. %%% Bwe nnameyera enkumi ettaano emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya? Ne bamugamba nti Kkumi na bibiri. 41MAR008.020 And when the seven among four thousand, how many baskets full of fragments took ye up? And they said, Seven. %%% Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya, mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka? Ne bamugamba nti Musanvu. 41MAR008.021 And he said unto them, How is it that ye do not understand? %%% N'abagamba nti Temunnategeera? 41MAR008.022 And he cometh to Bethsaida; and they bring a blind man unto him, and besought him to touch him. %%% Ne bajja ne batuuka mu Besusayida ne bamuleetera omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira okumukomako. 41MAR008.023 And he took the blind man by the hand, and led him out of the town; and when he had spit on his eyes, and put his hands upon him, he asked him if he saw ought. %%% N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru w'embuga; awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti Oliko ky'olaba? 41MAR008.024 And he looked up, and said, I see men as trees, walking. %%% N'atunula waggulu, n'agamba nti Ndaba abantu, kubanga ndaba bafaanana ng'emiti, nga batambula. 41MAR008.025 After that he put his hands again upon his eyes, and made him look up: and he was restored, and saw every man clearly. %%% Ate n'amussa engalo ku maaso ge n'akanula okulaba, n'awona, n'alaba byonna bulungi. 41MAR008.026 And he sent him away to his house, saying, Neither go into the town, nor tell it to any in the town. %%% N'amusindika ewuwe, ng'amugamba nti Toyingiranga mu mbuga muno. 41MAR008.027 And Jesus went out, and his disciples, into the towns of Caesarea Philippi: and by the way he asked his disciples, saying unto them, Whom do men say that I am? %%% Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu mbuga z'e Kayisaliya ekya Firipo. Bwe baatuuka mu kkubo n'abuuza abayigirizwa be, n'abagamba nti Abantu bampita ani? 41MAR008.028 And they answered, John the Baptist: but some say, Elias; and others, One of the prophets. %%% Ne bamugamba nti Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi. 41MAR008.029 And he saith unto them, But whom say ye that I am? And Peter answereth and saith unto him, Thou art the Christ. %%% Ye n'ababuuza nti Naye mmwe mumpita ani? Peetero n'addamu n'amugamba nti Ggwe Kristo. 41MAR008.030 And he charged them that they should tell no man of him. %%% N'abakomako baleme okubuulirako omuntu ebigambo bye. 41MAR008.031 And he began to teach them, that the Son of man must suffer many things, and be rejected of the elders, and of the chief priests, and scribes, and be killed, and after three days rise again. %%% N'atanula okubayigiriza nti kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira. 41MAR008.032 And he spake that saying openly. And Peter took him, and began to rebuke him. %%% N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amutwala, n'atanula okumunneya. 41MAR008.033 But when he had turned about and looked on his disciples, he rebuked Peter, saying, Get thee behind me, Satan: for thou savourest not the things that be of God, but the things that be of men. %%% Naye n'akyuka, n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti Dda ennyuma wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu. 41MAR008.034 And when he had called the people unto him with his disciples also, he said unto them, Whosoever will come after me, let him deny himself, and take up his cross, and follow me. %%% N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere. 41MAR008.035 For whosoever will save his life shall lose it; but whosoever shall lose his life for my sake and the gospel's, the same shall save it. %%% Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n'olw'enjiri alibulokola. 41MAR008.036 For what shall it profit a man, if he shall gain the whole world, and lose his own soul? %%% Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n'okufiirwa obulamu bwe? 41MAR008.037 Or what shall a man give in exchange for his soul? %%% Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe? 41MAR008.038 Whosoever therefore shall be ashamed of me and of my words in this adulterous and sinful generation; of him also shall the Son of man be ashamed, when he cometh in the glory of his Father with the holy angels. %%% Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu. 41MAR009.001 And he said unto them, Verily I say unto you, That there be some of them that stand here, which shall not taste of death, till they have seen the kingdom of God come with power. %%% N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono; okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi. 41MAR009.002 And after six days Jesus taketh with him Peter, and James, and John, and leadeth them up into an high mountain apart by themselves: and he was transfigured before them. %%% Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe. 41MAR009.003 And his raiment became shining, exceeding white as snow; so as no fuller on earth can white them. %%% Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo. 41MAR009.004 And there appeared unto them Elias with Moses: and they were talking with Jesus. %%% Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu. 41MAR009.005 And Peter answered and said to Jesus, Master, it is good for us to be here: and let us make three tabernacles; one for thee, and one for Moses, and one for Elias. %%% Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya. 41MAR009.006 For he wist not what to say; for they were sore afraid. %%% Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali batidde nnyo. 41MAR009.007 And there was a cloud that overshadowed them: and a voice came out of the cloud, saying, This is my beloved Son: hear him. %%% Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire. 41MAR009.008 And suddenly, when they had looked round about, they saw no man any more, save Jesus only with themselves. %%% Bwe baakebuka amangu ago, ne batalaba muntu nate wabula Yesu yekka nabo. 41MAR009.009 And as they came down from the mountain, he charged them that they should tell no man what things they had seen, till the Son of man were risen from the dead. %%% Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako omuntu bye balabye, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu. 41MAR009.010 And they kept that saying with themselves, questioning one with another what the rising from the dead should mean. %%% Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti Okuzuukira mu bafu kuliba kutya? 41MAR009.011 And they asked him, saying, Why say the scribes that Elias must first come? %%% Ne bamubuuza nga bagamba nti Abawandiisi boogera nti kigwana Eriya okusooka okujja. 41MAR009.012 And he answered and told them, Elias verily cometh first, and restoreth all things; and how it is written of the Son of man, that he must suffer many things, and be set at nought. %%% N'abagamba nti Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa? 41MAR009.013 But I say unto you, That Elias is indeed come, and they have done unto him whatsoever they listed, as it is written of him. %%% Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa. 41MAR009.014 And when he came to his disciples, he saw a great multitude about them, and the scribes questioning with them. %%% Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka. 41MAR009.015 And straightway all the people, when they beheld him, were greatly amazed, and running to him saluted him. %%% Amangu ago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne beewuunya nnyo, ne baddukana gy'ali ne bamulamusa. 41MAR009.016 And he asked the scribes, What question ye with them? %%% N'ababuuza nti Mubasokaasoka lwaki? 41MAR009.017 And one of the multitude answered and said, Master, I have brought unto thee my son, which hath a dumb spirit; %%% Omu mu kibiina n'amuddamu nti Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera; 41MAR009.018 And wheresoever he taketh him, he teareth him: and he foameth, and gnasheth with his teeth, and pineth away: and I spake to thy disciples that they should cast him out; and they could not. %%% buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza. 41MAR009.019 He answereth him, and saith, O faithless generation, how long shall I be with you? how long shall I suffer you? bring him unto me. %%% N'abaddamu, n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere. 41MAR009.020 And they brought him unto him: and when he saw him, straightway the spirit tare him; and he fell on the ground, and wallowed foaming. %%% Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangu ago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu. 41MAR009.021 And he asked his father, How long is it ago since this came unto him? And he said, Of a child. %%% N'abuuza kitaawe nti Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki? N'agamba nti Bwa mu buto. 41MAR009.022 And ofttimes it hath cast him into the fire, and into the waters, to destroy him: but if thou canst do any thing, have compassion on us, and help us. %%% Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere. 41MAR009.023 Jesus said unto him, If thou canst believe, all things are possible to him that believeth. %%% Yesu n'amugamba nti Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza. 41MAR009.024 And straightway the father of the child cried out, and said with tears, Lord, I believe; help thou mine unbelief. %%% Amangu ago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Nzikirizza: saasira obutakkiriza bwange. 41MAR009.025 When Jesus saw that the people came running together, he rebuked the foul spirit, saying unto him, Thou dumb and deaf spirit, I charge thee, come out of him, and enter no more into him. %%% Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kikuŋŋaana mbiro, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono. 41MAR009.026 And the spirit cried, and rent him sore, and came out of him: and he was as one dead; insomuch that many said, He is dead. %%% Awo n'akaaba, n'amutaagula nnyo, n'amuvaako; n'afaanana ng'afudde; n'okugamba abalala bangi ne bagamba nti Afudde. 41MAR009.027 But Jesus took him by the hand, and lifted him up; and he arose. %%% Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa; n'ayimirira. 41MAR009.028 And when he was come into the house, his disciples asked him privately, Why could not we cast him out? %%% Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti Ffe tetwayinzizza kumugoba. 41MAR009.029 And he said unto them, This kind can come forth by nothing, but by prayer and fasting. %%% N'abagamba nti Engeri eno teyinzika kuvaako lwa kigambo wabula olw'okusaba. 41MAR009.030 And they departed thence, and passed through Galilee; and he would not that any man should know it. %%% Ne bavaayo, ne bayita mu Ggaliraaya, n'atayagala muntu yenna kutegeera. 41MAR009.031 For he taught his disciples, and said unto them, The Son of man is delivered into the hands of men, and they shall kill him; and after that he is killed, he shall rise the third day. %%% Kubanga yayigiriza abayigirizwa be n'abagamba nti Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira. 41MAR009.032 But they understood not that saying, and were afraid to ask him. %%% Naye tebaategeera kigambo ekyo, ne batya okumubuuza. 41MAR009.033 And he came to Capernaum: and being in the house he asked them, What was it that ye disputed among yourselves by the way? %%% Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti Mubadde muwakana ki mu kkubo? 41MAR009.034 But they held their peace: for by the way they had disputed among themselves, who should be the greatest. %%% Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti ani omukulu. 41MAR009.035 And he sat down, and called the twelve, and saith unto them, If any man desire to be first, the same shall be last of all, and servant of all. %%% N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna. 41MAR009.036 And he took a child, and set him in the midst of them: and when he had taken him in his arms, he said unto them, %%% N'addira omwana omuto, n'amuyimiriza wakati mu bo: awo n'amuwambaatira n'abagamba nti 41MAR009.037 Whosoever shall receive one of such children in my name, receiveth me: and whosoever shall receive me, receiveth not me, but him that sent me. %%% Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma. 41MAR009.038 And John answered him, saying, Master, we saw one casting out devils in thy name, and he followeth not us: and we forbad him, because he followeth not us. %%% Awo Yokaana n'amugamba nti Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo; ne tumugaana, kubanga teyayita naffe. 41MAR009.039 But Jesus said, Forbid him not: for there is no man which shall do a miracle in my name, that can lightly speak evil of me. %%% Naye Yesu n'agamba nti Temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangu ago n'anvuma. 41MAR009.040 For he that is not against us is on our part. %%% Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe. 41MAR009.041 For whosoever shall give you a cup of water to drink in my name, because ye belong to Christ, verily I say unto you, he shall not lose his reward. %%% Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono. 41MAR009.042 And whosoever shall offend one of these little ones that believe in me, it is better for him that a millstone were hanged about his neck, and he were cast into the sea. %%% Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja. 41MAR009.043 And if thy hand offend thee, cut it off: it is better for thee to enter into life maimed, than having two hands to go into hell, into the fire that never shall be quenched: %%% Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira; 41MAR009.044 Where their worm dieth not, and the fire is not quenched. %%% envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira. 41MAR009.045 And if thy foot offend thee, cut it off: it is better for thee to enter halt into life, than having two feet to be cast into hell, into the fire that never shall be quenched: %%% N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi; 41MAR009.046 Where their worm dieth not, and the fire is not quenched. %%% envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira. 41MAR009.047 And if thine eye offend thee, pluck it out: it is better for thee to enter into the kingdom of God with one eye, than having two eyes to be cast into hell fire: %%% N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi; 41MAR009.048 Where their worm dieth not, and the fire is not quenched. %%% envunyu yaabwe gye tefiira, so n'omuliro teguzikira. 41MAR009.049 For every one shall be salted with fire, and every sacrifice shall be salted with salt. %%% Kubanga buli muntu alirungibwamu omuliro. 41MAR009.050 Salt is good: but if the salt have lost his saltness, wherewith will ye season it? Have salt in yourselves, and have peace one with another. %%% Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka. 41MAR010.001 And he arose from thence, and cometh into the coasts of Judaea by the farther side of Jordan: and the people resort unto him again; and, as he was wont, he taught them again. %%% Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu mbibi ez'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate; nga bwe yayisanga n'abayigiriza nate. 41MAR010.002 And the Pharisees came to him, and asked him, Is it lawful for a man to put away his wife? tempting him. %%% Awo Abafalisaayo ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti Kirungi omuntu okugobanga mukazi we? nga bamukema. 41MAR010.003 And he answered and said unto them, What did Moses command you? %%% Naye n'addamu n'abagamba nti Musa yabalagira atya? 41MAR010.004 And they said, Moses suffered to write a bill of divorcement, and to put her away. %%% Ne bagamba nti Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba; alyoke agobebwenga. 41MAR010.005 And Jesus answered and said unto them, For the hardness of your heart he wrote you this precept. %%% Naye Yesu n'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe kyeyava abawandiikira etteeka lino. 41MAR010.006 But from the beginning of the creation God made them male and female. %%% Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi. 41MAR010.007 For this cause shall a man leave his father and mother, and cleave to his wife; %%% Omuntu kyanaavanga aleka kitame ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; 41MAR010.008 And they twain shall be one flesh: so then they are no more twain, but one flesh. %%% nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu. 41MAR010.009 What therefore God hath joined together, let not man put asunder. %%% Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga. 41MAR010.010 And in the house his disciples asked him again of the same matter. %%% Awo ate mu nnyumba abayigirizwa ne bamubuuza ekigambo ekyo. 41MAR010.011 And he saith unto them, Whosoever shall put away his wife, and marry another, committeth adultery against her. %%% N'abagamba nti Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we, n'awasa omulala, ng'ayenze okumusobya; 41MAR010.012 And if a woman shall put away her husband, and be married to another, she committeth adultery. %%% naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze. 41MAR010.013 And they brought young children to him, that he should touch them: and his disciples rebuked those that brought them. %%% Awo ne bamuleetera abaana abato, okubakomako: abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 41MAR010.014 But when Jesus saw it, he was much displeased, and said unto them, Suffer the little children to come unto me, and forbid them not: for of such is the kingdom of God. %%% Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe: 41MAR010.015 Verily I say unto you, Whosoever shall not receive the kingdom of God as a little child, he shall not enter therein. %%% Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono. 41MAR010.016 And he took them up in his arms, put his hands upon them, and blessed them. %%% N'abawambaatira, n'abawa omukisa, ng'abassaako emikono. 41MAR010.017 And when he was gone forth into the way, there came one running, and kneeled to him, and asked him, Good Master, what shall I do that I may inherit eternal life? %%% Bwe yali ng'agenda mu kkubo, omu n'ajja gy'ali ng'addukana, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti Omuyigiriza omulungi, naakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo? Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda. 41MAR010.018 And Jesus said unto him, Why callest thou me good? there is none good but one, that is, God. %%% Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda. 41MAR010.019 Thou knowest the commandments, Do not commit adultery, Do not kill, Do not steal, Do not bear false witness, Defraud not, Honour thy father and mother. %%% Omanyi amateeka, Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko. 41MAR010.020 And he answered and said unto him, Master, all these have I observed from my youth. %%% N'amugamba nti Omuyigiriza, ebyo byonna nnabikwata okuva mu buto bwange. 41MAR010.021 Then Jesus beholding him loved him, and said unto him, One thing thou lackest: go thy way, sell whatsoever thou hast, and give to the poor, and thou shalt have treasure in heaven: and come, take up the cross, and follow me. %%% Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti Oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere. 41MAR010.022 And he was sad at that saying, and went away grieved: for he had great possessions. %%% Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi. 41MAR010.023 And Jesus looked round about, and saith unto his disciples, How hardly shall they that have riches enter into the kingdom of God! %%% Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 41MAR010.024 And the disciples were astonished at his words. But Jesus answereth again, and saith unto them, Children, how hard is it for them that trust in riches to enter into the kingdom of God! %%% Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 41MAR010.025 It is easier for a camel to go through the eye of a needle, than for a rich man to enter into the kingdom of God. %%% Kye kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 41MAR010.026 And they were astonished out of measure, saying among themselves, Who then can be saved? %%% Ne bawuniikirira nnyo, ne bamugamba nti Kale ani ayinza okulokoka? 41MAR010.027 And Jesus looking upon them saith, With men it is impossible, but not with God: for with God all things are possible. %%% Awo Yesu n'abatunuulira n'agamba nti Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda. 41MAR010.028 Then Peter began to say unto him, Lo, we have left all, and have followed thee. %%% Awo Peetero n'atanula okumugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera. 41MAR010.029 And Jesus answered and said, Verily I say unto you, There is no man that hath left house, or brethren, or sisters, or father, or mother, or wife, or children, or lands, for my sake, and the gospel's, %%% Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'enjiri, 41MAR010.030 But he shall receive an hundredfold now in this time, houses, and brethren, and sisters, and mothers, and children, and lands, with persecutions; and in the world to come eternal life. %%% ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo. 41MAR010.031 But many that are first shall be last; and the last first. %%% Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye. 41MAR010.032 And they were in the way going up to Jerusalem; and Jesus went before them: and they were amazed; and as they followed, they were afraid. And he took again the twelve, and began to tell them what things should happen unto him, %%% Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya: Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri, n'atanula okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako, nti 41MAR010.033 Saying, Behold, we go up to Jerusalem; and the Son of man shall be delivered unto the chief priests, and unto the scribes; and they shall condemn him to death, and shall deliver him to the Gentiles: %%% Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga: 41MAR010.034 And they shall mock him, and shall scourge him, and shall spit upon him, and shall kill him: and the third day he shall rise again. %%% balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta; bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira. 41MAR010.035 And James and John, the sons of Zebedee, come unto him, saying, Master, we would that thou shouldest do for us whatsoever we shall desire. %%% Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba. 41MAR010.036 And he said unto them, What would ye that I should do for you? %%% N'abagamba nti Mwagala mbakolere ki? 41MAR010.037 They said unto him, Grant unto us that we may sit, one on thy right hand, and the other on thy left hand, in thy glory. %%% Ne bamugamba nti Tuwe tutuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu kitiibwa kyo. 41MAR010.038 But Jesus said unto them, Ye know not what ye ask: can ye drink of the cup that I drink of? and be baptized with the baptism that I am baptized with? %%% Naye Yesu n'abagamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze? 41MAR010.039 And they said unto him, We can. And Jesus said unto them, Ye shall indeed drink of the cup that I drink of; and with the baptism that I am baptized withal shall ye be baptized: %%% Ne bamugamba nti Tuyinza. Yesu n'abagamba nti Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa; 41MAR010.040 But to sit on my right hand and on my left hand is not mine to give; but it shall be given to them for whom it is prepared. %%% naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa. 41MAR010.041 And when the ten heard it, they began to be much displeased with James and John. %%% Awo ekkumi bwe baawulira, ne batanula okusunguwalira Yakobo ne Yokaana. 41MAR010.042 But Jesus called them to him, and saith unto them, Ye know that they which are accounted to rule over the Gentiles exercise lordship over them; and their great ones exercise authority upon them. %%% Yesu n'abayita, n'abagamba nti Mumanyi ng'abo abaalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka. 41MAR010.043 But so shall it not be among you: but whosoever will be great among you, shall be your minister: %%% Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe; 41MAR010.044 And whosoever of you will be the chiefest, shall be servant of all. %%% na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wa bonna. 41MAR010.045 For even the Son of man came not to be ministered unto, but to minister, and to give his life a ransom for many. %%% Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi. 41MAR010.046 And they came to Jericho: and as he went out of Jericho with his disciples and a great number of people, blind Bartimaeus, the son of Timaeus, sat by the highway side begging. %%% Awo ne batuuka e Yeriko: bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Batiimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo. 41MAR010.047 And when he heard that it was Jesus of Nazareth, he began to cry out, and say, Jesus, thou son of David, have mercy on me. %%% Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atanula okwogerera waggulu n'okugamba nti Omwana wa Dawudi, Yesu, onsaasire. 41MAR010.048 And many charged him that he should hold his peace: but he cried the more a great deal, Thou son of David, have mercy on me. %%% Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Omwana wa Dawudi, onsaasire: 41MAR010.049 And Jesus stood still, and commanded him to be called. And they call the blind man, saying unto him, Be of good comfort, rise; he calleth thee. %%% Awo Yesu n'ayimirira n'agamba nti Mumuyite. Ne bayita omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti Guma omwoyo; golokoka, akuyita. 41MAR010.050 And he, casting away his garment, rose, and came to Jesus. %%% Naye n'asuula olugoye lwe, n'asituka, n'ajja eri Yesu. 41MAR010.051 And Jesus answered and said unto him, What wilt thou that I should do unto thee? The blind man said unto him, Lord, that I might receive my sight. %%% Yesu n'amuddamu, n'agamba nti Oyagala nkukole ntya? Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti Labooni, njagala nzibule. 41MAR010.052 And Jesus said unto him, Go thy way; thy faith hath made thee whole. And immediately he received his sight, and followed Jesus in the way. %%% Awo Yesu n'amugamba nti Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Amangu ago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo. 41MAR011.001 And when they came nigh to Jerusalem, unto Bethphage and Bethany, at the mount of Olives, he sendeth forth two of his disciples, %%% Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, 41MAR011.002 And saith unto them, Go your way into the village over against you: and as soon as ye be entered into it, ye shall find a colt tied, whereon never man sat; loose him, and bring him. %%% n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangu ago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete. 41MAR011.003 And if any man say unto you, Why do ye this? say ye that the Lord hath need of him; and straightway he will send him hither. %%% Omuntu bw'abagamba nti Mukola ki ekyo? mugamba nti Mukama waffe ye agwetaaga; amangu ago anaaguweereza eno. 41MAR011.004 And they went their way, and found the colt tied by the door without in a place where two ways met; and they loose him. %%% Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula. 41MAR011.005 And certain of them that stood there said unto them, What do ye, loosing the colt? %%% Abamu ku abo abaali bayimirikide awo ne babagamba nti Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi? 41MAR011.006 And they said unto them even as Jesus had commanded: and they let them go. %%% Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba: ne babaleka. 41MAR011.007 And they brought the colt to Jesus, and cast their garments on him; and he sat upon him. %%% Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala. 41MAR011.008 And many spread their garments in the way: and others cut down branches off the trees, and strawed them in the way. %%% Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro. 41MAR011.009 And they that went before, and they that followed, cried, saying, Hosanna; Blessed is he that cometh in the name of the Lord: %%% Abaali bakulembedde n'abaali bava ennyuma ne boogerera waggulu nti Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: 41MAR011.010 Blessed be the kingdom of our father David, that cometh in the name of the Lord: Hosanna in the highest. %%% Buweereddwa omu kisa obwakabaka obujja, obwajjajja ffe Dawudi: Ozaana waggulu ennyo. 41MAR011.011 And Jesus entered into Jerusalem, and into the temple: and when he had looked round about upon all things, and now the eventide was come, he went out unto Bethany with the twelve. %%% N'atuuka ku Yerusaalemi n'ayingira mu yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda e Bessaniya n'ekkumi n'ababiri. 41MAR011.012 And on the morrow, when they were come from Bethany, he was hungry: %%% Awo bwe bwakya enkya, bwe baali bavudde mu Bessaniya n'alumwa enjala. 41MAR011.013 And seeing a fig tree afar off having leaves, he came, if haply he might find any thing thereon: and when he came to it, he found nothing but leaves; for the time of figs was not yet. %%% Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala n'agutuukako, era wozzi alabeko ekintu: awo bwe yagutuukako, n'atalabako kintu wabula amalagala kubanga si bye byali ebiro by'ettiini. 41MAR011.014 And Jesus answered and said unto it, No man eat fruit of thee hereafter for ever. And his disciples heard it. %%% N'addamu n'agugamba nti Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo. Abayigirizwa be ne bawulira. 41MAR011.015 And they come to Jerusalem: and Jesus went into the temple, and began to cast out them that sold and bought in the temple, and overthrew the tables of the moneychangers, and the seats of them that sold doves; %%% Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu yeekaalu n'asooka okugoba abaali batunda n'abagulira mu yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba; 41MAR011.016 And would not suffer that any man should carry any vessel through the temple. %%% n'ataganya muntu okuyisa ekibya mu yeekaalu. 41MAR011.017 And he taught, saying unto them, Is it not written, My house shall be called of all nations the house of prayer? but ye have made it a den of thieves. %%% N'ayigiriza, n'abagamba nti Tekyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna? naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi. 41MAR011.018 And the scribes and chief priests heard it, and sought how they might destroy him: for they feared him, because all the people was astonished at his doctrine. %%% Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe. 41MAR011.019 And when even was come, he went out of the city. %%% Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga. 41MAR011.020 And in the morning, as they passed by, they saw the fig tree dried up from the roots. %%% Awo bwe bwakya enkya bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala. 41MAR011.021 And Peter calling to remembrance saith unto him, Master, behold, the fig tree which thou cursedst is withered away. %%% Peetero bwe yajjukira n'amugamba nti Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze. 41MAR011.022 And Jesus answering saith unto them, Have faith in God. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Mube n'okukkiriza mu Katonda. 41MAR011.023 For verily I say unto you, That whosoever shall say unto this mountain, Be thou removed, and be thou cast into the sea; and shall not doubt in his heart, but shall believe that those things which he saith shall come to pass; he shall have whatsoever he saith. %%% Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti Sigulibwa; osuulibwe mu nnyanja; nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiza nga kyayogera kikolebwa, alikiweebwa. 41MAR011.024 Therefore I say unto you, What things soever ye desire, when ye pray, believe that ye receive them, and ye shall have them. %%% Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize ga mubiweereddwa, era mulibifuna. 41MAR011.025 And when ye stand praying, forgive, if ye have ought against any: that your Father also which is in heaven may forgive you your trespasses. %%% Awo bwe munaayimiriranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe. 41MAR011.026 But if ye do not forgive, neither will your Father which is in heaven forgive your trespasses. %%% Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe. 41MAR011.027 And they come again to Jerusalem: and as he was walking in the temple, there come to him the chief priests, and the scribes, and the elders, %%% Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde; 41MAR011.028 And say unto him, By what authority doest thou these things? and who gave thee this authority to do these things? %%% ne bamugamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino? 41MAR011.029 And Jesus answered and said unto them, I will also ask of you one question, and answer me, and I will tell you by what authority I do these things. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Naye kambabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaabuulira mmwe obuyinza bwe buli obunkoza bino. 41MAR011.030 The baptism of John, was it from heaven, or of men? answer me. %%% Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? munziremu. 41MAR011.031 And they reasoned with themselves, saying, If we shall say, From heaven; he will say, Why then did ye not believe him? %%% Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza? 41MAR011.032 But if we shall say, Of men; they feared the people: for all men counted John, that he was a prophet indeed. %%% Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu - baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi. 41MAR011.033 And they answered and said unto Jesus, We cannot tell. And Jesus answering saith unto them, Neither do I tell you by what authority I do these things. %%% Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti Tetumanyi. Yesu n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino. 41MAR012.001 And he began to speak unto them by parables. A certain man planted a vineyard, and set an hedge about it, and digged a place for the winefat, and built a tower, and let it out to husbandmen, and went into a far country. %%% N'atanula okwogerera nabo mu ngero. Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusibako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisaamu abalimi, n'atambula mu nsi endala. 41MAR012.002 And at the season he sent to the husbandmen a servant, that he might receive from the husbandmen of the fruit of the vineyard. %%% Awo omwaka bwe gwatuuka n'atuma omuddu eri abalimi, abalimi bamuwe ebibala by'emizabbibu gye. 41MAR012.003 And they caught him, and beat him, and sent him away empty. %%% Ne bamukwata, ne bamukuba, n'addayo ngalo nsa. 41MAR012.004 And again he sent unto them another servant; and at him they cast stones, and wounded him in the head, and sent him away shamefully handled. %%% Ate n'abatumira omuddu omulala, oyo ne bamwasa olubale, ne bamuswaza. 41MAR012.005 And again he sent another; and him they killed, and many others; beating some, and killing some. %%% N'atuma omulala; oyo ne bamutta: n'abalala bangi; abamu nga babakuba, abalala nga babatta. 41MAR012.006 Having yet therefore one son, his wellbeloved, he sent him also last unto them, saying, They will reverence my son. %%% Yali ng'alina omu, omwana omwagalwa: oluvannyuma n'amutuma gye baali, ng'agamba nti Banassaamu ekitiibwa omwana wange. 41MAR012.007 But those husbandmen said among themselves, This is the heir; come, let us kill him, and the inheritance shall be our's. %%% Naye abalimi bali ne bagambagana bokka na bokka nti Ono ye musika, kale tumutte, n'obusika buliba bwaffe. 41MAR012.008 And they took him, and killed him, and cast him out of the vineyard. %%% Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'olusuku lw'emizabbibu. 41MAR012.009 What shall therefore the lord of the vineyard do? he will come and destroy the husbandmen, and will give the vineyard unto others. %%% Kale alibakola atya nannyini lusuku lw'emizabbibu? Alijja alizikiriza abalimi, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa balala. 41MAR012.010 And have ye not read this scripture; The stone which the builders rejected is become the head of the corner: %%% Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda: 41MAR012.010 This was the Lord's doing, and it is marvellous in our eyes? %%% Ekyo kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe? 41MAR012.012 And they sought to lay hold on him, but feared the people: for they knew that he had spoken the parable against them: and they left him, and went their way. %%% Ne basala amagezi okumukwata; ne batya ebibiina: kubanga baategeera ng'ageredde ku bo olugero olwo: ne bamuleka, ne bagenda. 41MAR012.013 And they send unto him certain of the Pharisees and of the Herodians, to catch him in his words. %%% Ne batuma gy'ali ab'omu Bafalisaayo n'Abakerodiyaani okumutega mu bigambo. 41MAR012.014 And when they were come, they say unto him, Master, we know that thou art true, and carest for no man: for thou regardest not the person of men, but teachest the way of God in truth: Is it lawful to give tribute to Caesar, or not? %%% Awo bwe bajja, ne bamugamba nti Omuyigiriza, tumanyi ggwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo? 41MAR012.015 Shall we give, or shall we not give? But he, knowing their hypocrisy, said unto them, Why tempt ye me? bring me a penny, that I may see it. %%% Tuwengayo, oba tetuwangayo? Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe. 41MAR012.016 And they brought it. And he saith unto them, Whose is this image and superscription? And they said unto him, Caesar's. %%% Ne bagireeta. N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko buno by'ani? Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. 41MAR012.017 And Jesus answering said unto them, vRender to Caesar the things that are Caesar's, and to God the things that are God's. And they marvelled at him. %%% Yesu n'abagamba nti Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumuwenga Katonda. Ne bamwewuunya nnyo. 41MAR012.018 Then come unto him the Sadducees , which say there is no resurrection; and they asked him, saying, %%% Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja w'ali; ne bamubuuza ne bagamba nti 41MAR012.019 Master, Moses wrote unto us, If a man's brother die, and leave his wife behind him, and leave no children, that his brother should take his wife, and raise up seed unto his brother. %%% Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga talese mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'assizaawo muganda we ezzadde. 41MAR012.020 Now there were seven brethren: and the first took a wife, and dying left no seed. %%% Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, n'atalekaawo zzadde; 41MAR012.021 And the second took her, and died, neither left he any seed: and the third likewise. %%% ow'okubiri n'amuwasa n'afa, era naye n'atalekaawo zzadde; n'ow'okusatu bw'atyo: 41MAR012.022 And the seven had her, and left no seed: last of all the woman died also. %%% bonna omusanvu ne batalekaawo zzadde. Oluvannyuma bonna nga baweddewo n'omukazi n'afa. 41MAR012.023 In the resurrection therefore, when they shall rise, whose wife shall she be of them? for the seven had her to wife. %%% Kale bwe balizuukira aliba muka ani ku bo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa. 41MAR012.024 And Jesus answering said unto them, Do ye not therefore err, because ye know not the scriptures, neither the power of God? %%% Yesu n'abagamba nti Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda? 41MAR012.025 For when they shall rise from the dead, they neither marry, nor are given in marriage; but are as the angels which are in heaven. %%% Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebaliwasa, so tebaliwayira; naye baliba nga bamalayika ab'omu ggulu. 41MAR012.026 And as touching the dead, that they rise: have ye not read in the book of Moses, how in the bush God spake unto him, saying, I am the God of Abraham, and the God of Isaac, and the God of Jacob? %%% Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? 41MAR012.027 He is not the God of the dead, but the God of the living: ye therefore do greatly err. %%% Si Katonda wa bafu, naye wa balamu: mukyama nnyo. 41MAR012.028 And one of the scribes came, and having heard them reasoning together, and perceiving that he had answered them well, asked him, Which is the first commandment of all? %%% Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna? 41MAR012.029 And Jesus answered him, The first of all the commandments is, Hear, O Israel; The Lord our God is one Lord: %%%9 Yesu n'addamu nti Ery'olubereberye lye lino nti Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu; 41MAR012.030 And thou shalt love the Lord thy God with all thy heart, and with all thy soul, and with all thy mind, and with all thy strength: this is the first commandment. %%% era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna. 41MAR012.031 And the second is like, namely this, Thou shalt love thy neighbour as thyself. There is none other commandment greater than these. %%% Ery'okubiri lye lino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu. 41MAR012.032 And the scribe said unto him, Well, Master, thou hast said the truth: for there is one God; and there is none other but he: %%% Omuwandiisi n'amugamba nti Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu so tewali mulala wabula ye: 41MAR012.033 And to love him with all the heart, and with all the understanding, and with all the soul, and with all the strength, and to love his neighbour as himself, is more than all whole burnt offerings and sacrifices. %%% n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka. 41MAR012.034 And when Jesus saw that he answered discreetly, he said unto him, Thou art not far from the kingdom of God. And no man after that durst ask him any question. %%% Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti Toli wala obwakabaka bwa Katonda. Awo ne wataba muntu ayaŋŋanga okumubuuza nate. 41MAR012.035 And Jesus answered and said, while he taught in the temple, How say the scribes that Christ is the son of David? %%% Yesu n'addamu n'agamba ng'ayigiriza mu yeekaalu nti Abawandiisi ekibagambya ki nti Kristo mwana wa Dawudi? 41MAR012.036 For David himself said by the Holy Ghost, The LORD said to my Lord, Sit thou on my right hand, till I make thine enemies thy footstool. %%% Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo. 41MAR012.037 David therefore himself calleth him Lord; and whence is he then his son? And the common people heard him gladly. %%% Dawudi yennyini amuyita Mukama we, abeera atya omwana we? Ab'omu kibiina ne bamuwulira n'essanyu. 41MAR012.038 And he said unto them in his doctrine, Beware of the scribes, which love to go in long clothing, and love salutations in the marketplaces, %%% Awo mu kuyigiriza kwe n'abagamba nti Mwekuume abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu, n'okulamusibwa mu butale, 41MAR012.039 And the chief seats in the synagogues, and the uppermost rooms at feasts: %%% n'entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga; 41MAR012.040 Which devour widows' houses, and for a pretence make long prayers: these shall receive greater damnation. %%% abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene. 41MAR012.041 And Jesus sat over against the treasury, and beheld how the people cast money into the treasury: and many that were rich cast in much. %%% N'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula effeeza mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi. 41MAR012.042 And there came a certain poor widow, and she threw in two mites, which make a farthing. %%% Awo nnamwandu omu omwavu n'ajja, n'asuulamu ebitundu bibiri, ye kodulante. 41MAR012.043 And he called unto him his disciples, and saith unto them, Verily I say unto you, That this poor widow hath cast more in, than all they which have cast into the treasury: %%% N'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika: 41MAR012.044 For all they did cast in of their abundance; but she of her want did cast in all that she had, even all her living. %%% kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo; bwe bulamu bwe bwonna. 41MAR013.001 And as he went out of the temple, one of his disciples saith unto him, Master, see what manner of stones and what buildings are here! %%% Awo bwe yafuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri. 41MAR013.002 And Jesus answering said unto him, Seest thou these great buildings? there shall not be left one stone upon another, that shall not be thrown down. %%% Yesu n'amugamba nti Olaba enzimba eno ennene? teririrekebwa wano jjinja eriri ku jjinja eritalisuulibwa wansi. 41MAR013.003 And as he sat upon the mount of Olives over against the temple, Peter and James and John and Andrew asked him privately, %%% Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti 41MAR013.004 Tell us, when shall these things be? and what shall be the sign when all these things shall be fulfilled? %%% Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? n'akabonero ki ak'ebyo nga bigenda okutuukirizibwa byonna? 41MAR013.005 And Jesus answering them began to say, Take heed lest any man deceive you: %%% Yesu n'asooka okubagamba nti Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga. 41MAR013.006 For many shall come in my name, saying, I am Christ; and shall deceive many. %%% Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti Nze nzuuyo; era balikyamya bangi. 41MAR013.007 And when ye shall hear of wars and rumours of wars, be ye not troubled: for such things must needs be; but the end shall not be yet. %%% Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo; temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. 41MAR013.008 For nation shall rise against nation, and kingdom against kingdom: and there shall be earthquakes in divers places, and there shall be famines and troubles: these are the beginnings of sorrows. %%% Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obw'akabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa. 41MAR013.009 But take heed to yourselves: for they shall deliver you up to councils; and in the synagogues ye shall be beaten: and ye shall be brought before rulers and kings for my sake, for a testimony against them. %%% Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makuŋŋaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo. 41MAR013.010 And the gospel must first be published among all nations. %%% Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. 41MAR013.011 But when they shall lead you, and deliver you up, take no thought beforehand what ye shall speak, neither do ye premeditate: but whatsoever shall be given you in that hour, that speak ye: for it is not ye that speak, but the Holy Ghost. %%% Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu. 41MAR013.012 Now the brother shall betray the brother to death, and the father the son; and children shall rise up against their parents, and shall cause them to be put to death. %%% Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassanga. 41MAR013.013 And ye shall be hated of all men for my name's sake: but he that shall endure unto the end, the same shall be saved. %%% Munaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka. 41MAR013.014 But when ye shall see the abomination of desolation, spoken of by Daniel the prophet, standing where it ought not, (let him that readeth understand,) then let them that be in Judaea flee to the mountains: %%% Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya baddukire ku nsozi; 41MAR013.015 And let him that is on the housetop not go down into the house, neither enter therein, to take any thing out of his house: %%% ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye: 41MAR013.016 And let him that is in the field not turn back again for to take up his garment. %%% n'ali mu lusuku taddanga kutwala lugoye lwe. 41MAR013.017 But woe to them that are with child, and to them that give suck in those days! %%% Naye ziribasanga abali embuto; n'abayonsa mu nnaku ezo. 41MAR013.018 And pray ye that your flight be not in the winter. %%% Musabe bireme okutuukira mu biro eby'empewo. 41MAR013.019 For in those days shall be affliction, such as was not from the beginning of the creation which God created unto this time, neither shall be. %%% Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityi kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, so teziriba. 41MAR013.020 And except that the Lord had shortened those days, no flesh should be saved: but for the elect's sake, whom he hath chosen, he hath shortened the days. %%% So singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose mubiri gwonna: naye olw'abalonde be yalonda yazisalako ennaku. 41MAR013.021 And then if any man shall say to you, Lo, here is Christ; or, lo, he is there; believe him not: %%% Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali eyo; temukkirizanga: 41MAR013.022 For false Christs and false prophets shall rise, and shall shew signs and wonders, to seduce, if it were possible, even the elect. %%% kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba baliyimuka, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika abalonde. 41MAR013.023 But take ye heed: behold, I have foretold you all things. %%% Naye mwekuume mmwe: laba, mbabuulidde byonna nga tebinnabaawo. 41MAR013.024 But in those days, after that tribulation, the sun shall be darkened, and the moon shall not give her light, %%% Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erizikizibwa n'omwezi tegulyaka musana gwagwo, 41MAR013.025 And the stars of heaven shall fall, and the powers that are in heaven shall be shaken. %%% n'emmunyeenye ziriba nga zigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankana. 41MAR013.026 And then shall they see the Son of man coming in the clouds with great power and glory. %%% Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa. 41MAR013.027 And then shall he send his angels, and shall gather together his elect from the four winds, from the uttermost part of the earth to the uttermost part of heaven. %%% Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu. 41MAR013.028 Now learn a parable of the fig tree; When her branch is yet tender, and putteth forth leaves, ye know that summer is near: %%% Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera mutegeera ng'omwaka guli kumpi 41MAR013.029 So ye in like manner, when ye shall see these things come to pass, know that it is nigh, even at the doors. %%% era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse; mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi. 41MAR013.030 Verily I say unto you, that this generation shall not pass, till all these things be done. %%% Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira. 41MAR013.031 Heaven and earth shall pass away: but my words shall not pass away. %%% Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono. 41MAR013.032 But of that day and that hour knoweth no man, no, not the angels which are in heaven, neither the Son, but the Father. %%% Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange. 41MAR013.033 Take ye heed, watch and pray: for ye know not when the time is. %%% Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira. 41MAR013.034 For the Son of man is as a man taking a far journey, who left his house, and gave authority to his servants, and to every man his work, and commanded the porter to watch. %%% Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe n'alagira omuggazi okutunula. 41MAR013.035 Watch ye therefore: for ye know not when the master of the house cometh, at even, or at midnight, or at the cockcrowing, or in the morning: %%% Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennyumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya; 41MAR013.036 Lest coming suddenly he find you sleeping. %%% atera okujja amangu ago n'abasanga nga mwebase. 41MAR013.037 And what I say unto you I say unto all, Watch. %%% Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule. 41MAR014.001 After two days was the feast of the passover, and of unleavened bread: and the chief priests and the scribes sought how they might take him by craft, and put him to death. %%% Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako n'emigaati egitazimbulukuswa etuuke: bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata mu lukwe n'okumutta: 41MAR014.002 But they said, Not on the feast day, lest there be an uproar of the people. %%% kubanga baagamba nti Si ku lunaku lwa mbaga, mpozzi waleme okubaawo akeegugungo mu bantu. 41MAR014.003 And being in Bethany in the house of Simon the leper, as he sat at meat, there came a woman having an alabaster box of ointment of spikenard very precious; and she brake the box, and poured it on his head. %%% Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwe. 41MAR014.004 And there were some that had indignation within themselves, and said, Why was this waste of the ointment made? %%% Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala nga bagamba nti Amafuta gafudde ki bwe gatyo? 41MAR014.005 For it might have been sold for more than three hundred pence, and have been given to the poor. And they murmured against her. %%% Kubanga amafuta gano bandiyinzizza okugatundamu eddinaali ebikumi bisatu n'okusingawo n'okugabira abaavu. Ne bamwemulugunyiza. 41MAR014.006 And Jesus said, Let her alone; why trouble ye her? she hath wrought a good work on me. %%% Naye Yesu n'agamba nti Mumuleke; mumunakuwaliza ki? ankoledde ekikolwa ekirungi. 41MAR014.007 For ye have the poor with you always, and whensoever ye will ye may do them good: but me ye have not always. %%% Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo. 41MAR014.008 She hath done what she could: she is come aforehand to anoint my body to the burying. %%% Akoze nga bw'ayinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika. 41MAR014.009 Verily I say unto you, Wheresoever this gospel shall be preached throughout the whole world, this also that she hath done shall be spoken of for a memorial of her. %%% Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira. 41MAR014.010 And Judas Iscariot, one of the twelve, went unto the chief priests, to betray him unto them. %%% Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu; okumuwaayo gye bali: 41MAR014.011 And when they heard it, they were glad, and promised to give him money. And he sought how he might conveniently betray him. %%% Awo bwe baawulira, ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'asala amagezi bw'anaalaba ebbanga okumuwaayo. 41MAR014.012 And the first day of unleavened bread, when they killed the passover, his disciples said unto him, Where wilt thou that we go and prepare that thou mayest eat the passover? %%% Awo ku lunaku olwasooka olw'emigaati egitazimbulukuswa lwe batta Okuyitako, abayigirizwa be ne bamugamba nti Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako? 41MAR014.013 And he sendeth forth two of his disciples, and saith unto them, Go ye into the city, and there shall meet you a man bearing a pitcher of water: follow him. %%% N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere; 41MAR014.014 And wheresoever he shall go in, say ye to the goodman of the house, The Master saith, Where is the guestchamber, where I shall eat the passover with my disciples? %%% yonna yonna mw'anaayingira mugambe nnannyini nnyumba nti Omuyigiriza agambye nti Ennyumba eri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange? 41MAR014.015 And he will shew you a large upper room furnished and prepared: there make ready for us. %%% Anaabalaga ye yennyini ennyumba ennene eya waggulu eyaliiriddwa etegekeddwa: mututegekere omwo. 41MAR014.016 And his disciples went forth, and came into the city, and found as he had said unto them: and they made ready the passover. %%% Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako. 41MAR014.017 And in the evening he cometh with the twelve. %%% Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri. 41MAR014.018 And as they sat and did eat, Jesus said, Verily I say unto you, One of you which eateth with me shall betray me. %%% Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe; 41MAR014.019 And they began to be sorrowful, and to say unto him one by one, Is it I? and another said, Is it I? %%% ne batanula okunakuwala n'okumugamba kinnoomu nti Ye nze? 41MAR014.020 And he answered and said unto them, It is one of the twelve, that dippeth with me in the dish. %%% N'abagamba nti Omu ku kkumi n'ababiri akoza nange mu kibya ye wuuyo. 41MAR014.021 The Son of man indeed goeth, as it is written of him: but woe to that man by whom the Son of man is betrayed! good were it for that man if he had never been born. %%% Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo. 41MAR014.022 And as they did eat, Jesus took bread, and blessed, and brake it, and gave to them, and said, Take, eat: this is my body. %%% Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti Mutoole; guno gwe mubiri gwange. 41MAR014.023 And he took the cup, and when he had given thanks, he gave it to them: and they all drank of it. %%% N'addira ekikompe, awo bwe yamala okweyanza, n'abawa; ne bakinywako bonna. 41MAR014.024 And he said unto them, This is my blood of the new testament, which is shed for many. %%% N'abagamba nti Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi. 41MAR014.025 Verily I say unto you, I will drink no more of the fruit of the vine, until that day that I drink it new in the kingdom of God. %%% Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku bibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya mu bwakabaka bwa Katonda. 41MAR014.026 And when they had sung an hymn, they went out into the mount of Olives. %%% Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 41MAR014.027 And Jesus saith unto them, All ye shall be offended because of me this night: for it is written, I will smite the shepherd, and the sheep shall be scattered. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana. 41MAR014.028 But after that I am risen, I will go before you into Galilee. %%% Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya. 41MAR014.029 But Peter said unto him, Although all shall be offended, yet will not I. %%% Naye Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze. 41MAR014.030 And Jesus saith unto him, Verily I say unto thee, That this day, even in this night, before the cock crow twice, thou shalt deny me thrice. %%% Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu. 41MAR014.031 But he spake the more vehemently, If I should die with thee, I will not deny thee in any wise. Likewise also said they all. %%% Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. Era bonna ne bagamba bwe batyo. 41MAR014.032 And they came to a place which was named Gethsemane: and he saith to his disciples, Sit ye here, while I shall pray. %%% Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano mmale okusaba. 41MAR014.033 And he taketh with him Peter and James and John, and began to be sore amazed, and to be very heavy; %%% N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atanula okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo. 41MAR014.034 And saith unto them, My soul is exceeding sorrowful unto death: tarry ye here, and watch. %%% N'abagamba nti Emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule. 41MAR014.035 And he went forward a little, and fell on the ground, and prayed that, if it were possible, the hour might pass from him. %%% N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko. 41MAR014.036 And he said, Abba, Father, all things are possible unto thee; take away this cup from me: nevertheless not what I will, but what thou wilt. %%% N'agamba nti Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nziyaako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala. 41MAR014.037 And he cometh, and findeth them sleeping, and saith unto Peter, Simon, sleepest thou? couldest not thou watch one hour? %%% Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Simooni, weebase? tobadde na maanyi ag'okutunula n'essaawa emu eti? 41MAR014.038 Watch ye and pray, lest ye enter into temptation. The spirit truly is ready, but the flesh is weak. %%% Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala, naye omubiri gwe munafu. 41MAR014.039 And again he went away, and prayed, and spake the same words. %%% Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebigambo bimu na biri. 41MAR014.040 And when he returned, he found them asleep again, (for their eyes were heavy,) neither wist they what to answer him. %%% N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga nnyo; so tebaamanya bwe banaamuddamu. 41MAR014.041 And he cometh the third time, and saith unto them, Sleep on now, and take your rest: it is enough, the hour is come; behold, the Son of man is betrayed into the hands of sinners. %%% N'ajja omulundi ogw'okusatu, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi. 41MAR014.042 Rise up, let us go; lo, he that betrayeth me is at hand. %%% Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka. 41MAR014.043 And immediately, while he yet spake, cometh Judas, one of the twelve, and with him a great multitude with swords and staves, from the chief priests and the scribes and the elders. %%% Awo amangu ago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde. 41MAR014.044 And he that betrayed him had given them a token, saying, Whomsoever I shall kiss, that same is he; take him, and lead him away safely. %%% Era oyo eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza. 41MAR014.045 And as soon as he was come, he goeth straightway to him, and saith, Master, master; and kissed him. %%% Awo bwe yatuuka, amangu ago n'ajja gy'ali n'agamba nti Labbi; n'amunywegera nnyo. 41MAR014.046 And they laid their hands on him, and took him. %%% Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata. 41MAR014.047 And one of them that stood by drew a sword, and smote a servant of the high priest, and cut off his ear. %%% Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu. 41MAR014.048 And Jesus answered and said unto them, Are ye come out, as against a thief, with swords and with staves to take me? %%% Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi; n'ebitala n'emiggo okunkwata? 41MAR014.049 I was daily with you in the temple teaching, and ye took me not: but the scriptures must be fulfilled. %%% Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire. 41MAR014.050 And they all forsook him, and fled. %%% Awo bonna ne bamwabulira ne badduka. 41MAR014.051 And there followed him a certain young man, having a linen cloth cast about his naked body; and the young men laid hold on him: %%% Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata; 41MAR014.052 And he left the linen cloth, and fled from them naked. %%% naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere. 41MAR014.053 And they led Jesus away to the high priest: and with him were assembled all the chief priests and the elders and the scribes. %%% Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu: ne bamukuŋŋaanirako bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi. 41MAR014.054 And Peter followed him afar off, even into the palace of the high priest: and he sat with the servants, and warmed himself at the fire. %%% Awo Peetero n'amugoberera wala, okutuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu; yali atudde n'abaweereza ng'ayota omuliro. 41MAR014.055 And the chief priests and all the council sought for witness against Jesus to put him to death; and found none. %%% Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonyeza Yesu abajulirwa ab'okumussa, so ne batabalaba: 41MAR014.056 For many bare false witness against him, but their witness agreed not together. %%% Kubanga abaamuwaayiriza eby'obulimba bangi, so n'okuwaayiriza kwabwe tekwali kumu. 41MAR014.057 And there arose certain, and bare false witness against him, saying, %%% Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti 41MAR014.058 We heard him say, I will destroy this temple that is made with hands, and within three days I will build another made without hands. %%% Ffe twamuwulira ng'agamba nti Ndimenya yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono. 41MAR014.059 But neither so did their witness agree together. %%% So n'okuwaayiriza kwabwe okwo nakwo tekwali kumu. 41MAR014.060 And the high priest stood up in the midst, and asked Jesus, saying, Answerest thou nothing? what is it which these witness against thee? %%% Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, ng'agamba nti Ggwe toyanukula n'akatono? kiki kye bakulumiriza bano? 41MAR014.061 But he held his peace, and answered nothing. Again the high priest asked him, and said unto him, Art thou the Christ, the Son of the Blessed? %%% Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amugamba nti Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa? 41MAR014.062 And Jesus said, I am: and ye shall see the Son of man sitting on the right hand of power, and coming in the clouds of heaven. %%% Yesu n'agamba nti Nze nzuuno; nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu. 41MAR014.063 Then the high priest rent his clothes, and saith, What need we any further witnesses? %%% Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti Twetaagira ki nate abajulirwa? 41MAR014.064 Ye have heard the blasphemy: what think ye? And they all condemned him to be guilty of death. %%% Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya? Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa. 41MAR014.065 And some began to spit on him, and to cover his face, and to buffet him, and to say unto him, Prophesy: and the servants did strike him with the palms of their hands. %%% Awo abamu ne batanula okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti Lagula: abaweereza ne bamutwala nga bamukuba empi. 41MAR014.066 And as Peter was beneath in the palace, there cometh one of the maids of the high priest: %%% Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana ba kabona asinga obukulu n'ajja; 41MAR014.067 And when she saw Peter warming himself, she looked upon him, and said, And thou also wast with Jesus of Nazareth. %%% awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'agamba nti Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu. 41MAR014.068 But he denied, saying, I know not, neither understand I what thou sayest. And he went out into the porch; and the cock crew. %%% Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti Simanyi, so sitegeera ky'oyogera: n'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima. 41MAR014.069 And a maid saw him again, and began to say to them that stood by, This is one of them. %%% Awo omuzaana n'amulaba, n'atanula nate okubagamba abaali bayimiridde awo nti Ono w'ewaabwe. 41MAR014.070 And he denied it again. And a little after, they that stood by said again to Peter, Surely thou art one of them: for thou art a Galilaean, and thy speech agreeth thereto. %%% Naye ne yeegaana nate. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti Mazima oli w'ewaabwe; kubanga oli Mugaliraaya. 41MAR014.071 But he began to curse and to swear, saying, I know not this man of whom ye speak. %%% Naye n'atanula okukolima n'okulayira nti Simanyi muntu ono, gwe mwogerako. 41MAR014.072 And the second time the cock crew. And Peter called to mind the word that Jesus said unto him, Before the cock crow twice, thou shalt deny me thrice. And when he thought thereon, he wept. %%% Amangu ago enkoko n'ekookolima omulundi ogw'okubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe yamugambye nti Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu. Kale bwe yalowooza, n'akaaba amaziga. 41MAR015.001 And straightway in the morning the chief priests held a consultation with the elders and scribes and the whole council, and bound Jesus, and carried him away, and delivered him to Pilate. %%% Awo amangu ago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato. 41MAR015.002 And Pilate asked him, Art thou the King of the Jews? And he answering said unto him, Thou sayest it. %%% Awo Piraato n'amubuuza nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Bwe yaddamu n'amugamba nti Ggwe oyogedde. 41MAR015.003 And the chief priests accused him of many things: but he answered nothing. %%% Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi. 41MAR015.004 And Pilate asked him again, saying, Answerest thou nothing? behold how many things they witness against thee. %%% Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti Toyanukula n'akatono? laba ebigambo bingi bye bakuloopa. 41MAR015.005 But Jesus yet answered nothing; so that Pilate marvelled. %%% Naye Yesu n'ataddamu nate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya. 41MAR015.006 Now at that feast he released unto them one prisoner, whomsoever they desired. %%% Awo ku mbaga yabateeranga omusibe omu gwe baamusaba. 41MAR015.007 And there was one named Barabbas, which lay bound with them that had made insurrection with him, who had committed murder in the insurrection. %%% Awo waaliwo omu ayitibwa Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema abatta abantu mu kujeema okwo. 41MAR015.008 And the multitude crying aloud began to desire him to do as he had ever done unto them. %%% Awo ekibiina ne kirinnya ne kitanula okumusaba okubakola nga bwe yabakolanga. 41MAR015.009 But Pilate answered them, saying, Will ye that I release unto you the King of the Jews? %%% Awo Piraato n'abaddamu, ng'agamba nti Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya? 41MAR015.010 For he knew that the chief priests had delivered him for envy. %%% Kubanga yategeera nga bakabona abakulu baamuweesezzaayo buggya. 41MAR015.011 But the chief priests moved the people, that he should rather release Barabbas unto them. %%% Naye bakabona abakulu ne baweerera ekibiina nti Balaba gw'aba abateera. 41MAR015.012 And Pilate answered and said again unto them, What will ye then that I shall do unto him whom ye call the King of the Jews? %%% Awo Piraato n'addamu nate n'abagamba, nti Kale nnaamukola ntya gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya? 41MAR015.013 And they cried out again, Crucify him. %%% Awo ne boogerera waggulu nate nti Mukomerere. 41MAR015.014 Then Pilate said unto them, Why, what evil hath he done? And they cried out the more exceedingly, Crucify him. %%% Awo Piraato n'abagamba nti Kazzi kibi ki ky'akoze? Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Mukomerere. 41MAR015.015 And so Pilate, willing to content the people, released Barabbas unto them, and delivered Jesus, when he had scourged him, to be crucified. %%% Awo Piraato bwe yali ayagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Balaba, n'awaayo Yesu okukomererwa ng'amaze okumukuba. 41MAR015.016 And the soldiers led him away into the hall, called Praetorium; and they call together the whole band. %%% Awo basserikale ne bamutwala munda mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole kyonna okukuŋŋaana. 41MAR015.017 And they clothed him with purple, and platted a crown of thorns, and put it about his head, %%% Ne bamwambaza olugoye olw'effulungu. Ne baluka engule ey'amaggwa ne bagimutikkira; 41MAR015.018 And began to salute him, Hail, King of the Jews! %%% ne batanula okumulamusa nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! 41MAR015.019 And they smote him on the head with a reed, and did spit upon him, and bowing their knees worshipped him. %%% Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza. 41MAR015.020 And when they had mocked him, they took off the purple from him, and put his own clothes on him, and led him out to crucify him. %%% Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera. 41MAR015.021 And they compel one Simon a Cyrenian, who passed by, coming out of the country, the father of Alexander and Rufus, to bear his cross. %%% Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe. 41MAR015.022 And they bring him unto the place Golgotha, which is, being interpreted, The place of a skull. %%% Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, okutegeezebwa kwakyo nti Kifo kya kiwanga. 41MAR015.023 And they gave him to drink wine mingled with myrrh: but he received it not. %%% Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza. 41MAR015.024 And when they had crucified him, they parted his garments, casting lots upon them, what every man should take. %%% Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu; buli muntu ky'anaatwala. 41MAR015.025 And it was the third hour, and they crucified him. %%% Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera. 41MAR015.026 And the superscription of his accusation was written over, THE KING OF THE JEWS. %%% Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti KABAKA W'ABAYUDAAYA. 41MAR015.027 And with him they crucify two thieves; the one on his right hand, and the other on his left. %%% Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. 41MAR015.028 And the scripture was fulfilled, which saith, And he was numbered with the transgressors. %%% Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti N'abalirwa awamu n'abasobya: 41MAR015.029 And they that passed by railed on him, wagging their heads, and saying, Ah, thou that destroyest the temple, and buildest it in three days, %%% Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti So, ggwe amenya yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu, 41MAR015.030 Save thyself, and come down from the cross. %%% weerokole, ove ku musalaba. 41MAR015.031 Likewise also the chief priests mocking said among themselves with the scribes, He saved others; himself he cannot save. %%% Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi bokka na bokka ne bagamba nti Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. 41MAR015.032 Let Christ the King of Israel descend now from the cross, that we may see and believe. And they that were crucified with him reviled him. %%% Kristo Kabaka wa Isiraeri ave kaakano ku musalaba, tulyoke tulabe tukkirize. Ne bali abaakomererwa naye ne bamuvuma. 41MAR015.033 And when the sixth hour was come, there was darkness over the whole land until the ninth hour. %%% Awo essaawa bwe zaali ziri mukaaga ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa ey'omwenda. 41MAR015.034 And at the ninth hour Jesus cried with a loud voice, saying, Eloi, Eloi, lama sabachthani? which is, being interpreted, My God, my God, why hast thou forsaken me? %%% Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Eroi, Eroi, lama sabakusaani? okutegeezebwa kwakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? 41MAR015.035 And some of them that stood by, when they heard it, said, Behold, he calleth Elias. %%% Awo abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti Laba, ayita Eriya. 41MAR015.036 And one ran and filled a spunge full of vinegar, and put it on a reed, and gave him to drink, saying, Let alone; let us see whether Elias will come to take him down. %%% Awo omu n'addukana, n'annyika ekisuumwa mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula. 41MAR015.037 And Jesus cried with a loud voice, and gave up the ghost. %%% Awo Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene n'awaayo obulamu. 41MAR015.038 And the veil of the temple was rent in twain from the top to the bottom. %%% Awo n'eggigi ly'omu yeekaalu ne liyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. 41MAR015.039 And when the centurion, which stood over against him, saw that he so cried out, and gave up the ghost, he said, Truly this man was the Son of God. %%% Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda. 41MAR015.040 There were also women looking on afar off: among whom was Mary Magdalene, and Mary the mother of James the less and of Joses, and Salome; %%% Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo waaliwo ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome; 41MAR015.041 (Who also, when he was in Galilee, followed him, and ministered unto him;) and many other women which came up with him unto Jerusalem. %%% abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abaalinnya naye e Yerusaalemi. 41MAR015.042 And now when the even was come, because it was the preparation, that is, the day before the sabbath, %%% Awo bwe bwawungeera, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, lwe lunaku olusooka ssabbiiti, 41MAR015.043 Joseph of Arimathaea, an honourable counsellor, which also waited for the kingdom of God, came, and went in boldly unto Pilate, and craved the body of Jesus. %%% Yusufu ow'e Alimasaya, omukulu ateesa ow'ekitiibwa, era eyasuubiranga yennyini obwakabaka bwa Katonda; n'aguma n'ayingira eri Piraato nga tatya, n'asaba omulambo gwa Yesu. 41MAR015.044 And Pilate marvelled if he were already dead: and calling unto him the centurion, he asked him whether he had been any while dead. %%% Awo Piraato ne yeewuunya bw'afudde amangu, n'ayita omwami w'ekitongole n'amubuuza oba ng'ekiseera kiyiseewo yaakafiira. 41MAR015.045 And when he knew it of the centurion, he gave the body to Joseph. %%% Awo bwe yakiwulira okuva eri omwami, n'awa Yusufu omulambo. 41MAR015.046 And he bought fine linen, and took him down, and wrapped him in the linen, and laid him in a sepulchre which was hewn out of a rock, and rolled a stone unto the door of the sepulchre. %%% Ye n'agula olugoye olw'ekitaani, n'amuwanula, n'amuzinga mu lugoye olw'ekitaani olwo, n'amussa mu ntaana eyasimwa mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana. 41MAR015.047 And Mary Magdalene and Mary the mother of Joses beheld where he was laid. %%% Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateebwa. 41MAR016.001 And when the sabbath was past, Mary Magdalene, and Mary the mother of James, and Salome, had bought sweet spices, that they might come and anoint him. %%% Awo ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, bajje bamusiige. 41MAR016.002 And very early in the morning the first day of the week, they came unto the sepulchre at the rising of the sun. %%% Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana. 41MAR016.003 And they said among themselves, Who shall roll us away the stone from the door of the sepulchre? %%% Awo baali beebuuzaganya bokka nti Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana? 41MAR016.004 And when they looked, they saw that the stone was rolled away: for it was very great. %%% Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali; kubanga lyali ddene nnyo. 41MAR016.005 And entering into the sepulchre, they saw a young man sitting on the right side, clothed in a long white garment; and they were affrighted. %%% Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olutukuvu; ne bawuniikirira. 41MAR016.006 And he saith unto them, Be not affrighted: Ye seek Jesus of Nazareth, which was crucified: he is risen; he is not here: behold the place where they laid him. %%% N'abagamba nti Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa. 41MAR016.007 But go your way, tell his disciples and Peter that he goeth before you into Galilee: there shall ye see him, as he said unto you. %%% Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba. 41MAR016.008 And they went out quickly, and fled from the sepulchre; for they trembled and were amazed: neither said they any thing to any man; for they were afraid. %%% Ne bava ku ntaana nga baddukana mangu; kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya. 41MAR016.009 Now when Jesus was risen early the first day of the week, he appeared first to Mary Magdalene, out of whom he had cast seven devils. %%% Awo bwe yamala okuzuukira mu makya ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu. 41MAR016.010 And she went and told them that had been with him, as they mourned and wept. %%% Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, nga banakuwala nga bakaaba. 41MAR016.011 And they, when they had heard that he was alive, and had been seen of her, believed not. %%% Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza. 41MAR016.012 After that he appeared in another form unto two of them, as they walked, and went into the country. %%% Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo. 41MAR016.013 And they went and told it unto the residue: neither believed they them. %%% Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, so ne batabakkiriza. 41MAR016.014 Afterward he appeared unto the eleven as they sat at meat, and upbraided them with their unbelief and hardness of heart, because they believed not them which had seen him after he was risen. %%% Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakaayavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira: 41MAR016.015 And he said unto them, Go ye into all the world, and preach the gospel to every creature. %%% N'abagamba nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna. 41MAR016.016 He that believeth and is baptized shall be saved; but he that believeth not shall be damned. %%% Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga. 41MAR016.017 And these signs shall follow them that believe; In my name shall they cast out devils; they shall speak with new tongues; %%% Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya; 41MAR016.018 They shall take up serpents; and if they drink any deadly thing, it shall not hurt them; they shall lay hands on the sick, and they shall recover. %%% banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga. 41MAR016.019 So then after the Lord had spoken unto them, he was received up into heaven, and sat on the right hand of God. %%% Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 41MAR016.020 And they went forth, and preached every where, the Lord working with them, and confirming the word with signs following. Amen. %%% Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina. 42LUK001.001 Forasmuch as many have taken in hand to set forth in order a declaration of those things which are most surely believed among us, %%% Bwe baali abangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe, 42LUK001.002 Even as they delivered them unto us, which from the beginning were eyewitnesses, and ministers of the word; %%% nga bwe baabitubuulira, abo abaasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, 42LUK001.003 It seemed good to me also, having had perfect understanding of all things from the very first, to write unto thee in order, most excellent Theophilus, %%% awo bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, era nange nnalaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe, Teefiro omulungi ennyo, nga bwe byaliraana; 42LUK001.004 That thou mightest know the certainty of those things, wherein thou hast been instructed. %%% olyoke omanye amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa. 42LUK001.005 There was in the days of Herod, the king of Judaea, a certain priest named Zacharias, of the course of Abia: and his wife was of the daughters of Aaron, and her name was Elisabeth. %%% Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka We Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi. 42LUK001.006 And they were both righteous before God, walking in all the commandments and ordinances of the Lord blameless. %%% N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi. 42LUK001.007 And they had no child, because that Elisabeth was barren, and they both were now well stricken in years. %%% So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, nabo bombi baali bakaddiye mu myaka gyabwe. 42LUK001.008 And it came to pass, that while he executed the priest's office before God in the order of his course, %%% Awo olwatuuka, bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwa kabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana, 42LUK001.009 According to the custom of the priest's office, his lot was to burn incense when he went into the temple of the Lord. %%% awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane. 42LUK001.010 And the whole multitude of the people were praying without at the time of incense. %%% Awo ekibiina kyonna eky'abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky'okwoterezaamu. 42LUK001.011 And there appeared unto him an angel of the Lord standing on the right side of the altar of incense. %%% Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwoterezaako. 42LUK001.012 And when Zacharias saw him, he was troubled, and fear fell upon him. %%% Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yeeraliikirira, n'atya. 42LUK001.013 But the angel said unto him, Fear not, Zacharias: for thy prayer is heard; and thy wife Elisabeth shall bear thee a son, and thou shalt call his name John. %%% Naye malayika n'amugamba nti Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana. 42LUK001.014 And thou shalt have joy and gladness; and many shall rejoice at his birth. %%% Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe. 42LUK001.015 For he shall be great in the sight of the Lord, and shall drink neither wine nor strong drink; and he shall be filled with the Holy Ghost, even from his mother's womb. %%% Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina. 42LUK001.016 And many of the children of Israel shall he turn to the Lord their God. %%% Era bangi mu baana ba Isiraeri alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe. 42LUK001.017 And he shall go before him in the spirit and power of Elias, to turn the hearts of the fathers to the children, and the disobedient to the wisdom of the just; to make ready a people prepared for the Lord. %%% Alikulembera mu maaso ge: mu mwoyo n'amaanyi ga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekebwateekebwa. 42LUK001.018 And Zacharias said unto the angel, Whereby shall I know this? for I am an old man, and my wife well stricken in years. %%% Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti Nnaakimanya ntya ekyo? kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange akaddiye mu myaka gye. 42LUK001.019 And the angel answering said unto him, I am Gabriel, that stand in the presence of God; and am sent to speak unto thee, and to shew thee these glad tidings. %%% Awo malayika n'addamu n'amugamba nti Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi. 42LUK001.020 And, behold, thou shalt be dumb, and not able to speak, until the day that these things shall be performed, because thou believest not my words, which shall be fulfilled in their season. %%% Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku lwe biribaawo ebyo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo. 42LUK001.021 And the people waited for Zacharias, and marvelled that he tarried so long in the temple. %%% Awo abantu baali balindirira Zaakaliya, ne beewuunya bw'aludde mu yeekaalu. 42LUK001.022 And when he came out, he could not speak unto them: and they perceived that he had seen a vision in the temple: for he beckoned unto them, and remained speechless. %%% Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono ng'akyasiruwadde. 42LUK001.023 And it came to pass, that, as soon as the days of his ministration were accomplished, he departed to his own house. %%% Awo olwatuuka, ennaku ez'okuweereza kwe bwe zaggwaayo, n'addayo eka ewuwe. 42LUK001.024 And after those days his wife Elisabeth conceived, and hid herself five months, saying, %%% Awo ennaku ezo bwe zaayitawo mukazi we Erisabesi n'aba olubuto: ne yeekwekera emyezi etaano, ng'agamba nti 42LUK001.025 Thus hath the Lord dealt with me in the days wherein he looked on me, to take away my reproach among men. %%% Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu okunziyako ensonyi mu bantu. 42LUK001.026 And in the sixth month the angel Gabriel was sent from God unto a city of Galilee, named Nazareth, %%% Awo mu mwezi ogw'omukaaga malayika Gabulyeri n'atumibwa Katonda mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi, 42LUK001.027 To a virgin espoused to a man whose name was Joseph, of the house of David; and the virgin's name was Mary. %%% eri omuwala atamanyi musajja eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi; n'erinnya ly'omuwala Malyamu. 42LUK001.028 And the angel came in unto her, and said, Hail, thou that art highly favoured, the Lord is with thee: blessed art thou among women. %%% Awo n'ayingira omumwe, n'agamba nti Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe. 42LUK001.029 And when she saw him, she was troubled at his saying, and cast in her mind what manner of salutation this should be. %%% Naye ye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli. 42LUK001.030 And the angel said unto her, Fear not, Mary: for thou hast found favour with God. %%% Awo malayika n'amugamba nti Totya, Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda. 42LUK001.031 And, behold, thou shalt conceive in thy womb, and bring forth a son, and shalt call his name JESUS. %%% Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. 42LUK001.032 He shall be great, and shall be called the Son of the Highest: and the Lord God shall give unto him the throne of his father David: %%% Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe: 42LUK001.033 And he shall reign over the house of Jacob for ever; and of his kingdom there shall be no end. %%% era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo. 42LUK001.034 Then said Mary unto the angel, How shall this be, seeing I know not a man? %%% Awo Malyamu n'agamba malayika nti Kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja? 42LUK001.035 And the angel answered and said unto her, The Holy Ghost shall come upon thee, and the power of the Highest shall overshadow thee: therefore also that holy thing which shall be born of thee shall be called the Son of God. %%% Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, omwana wa Katonda. 42LUK001.036 And, behold, thy cousin Elisabeth, she hath also conceived a son in her old age: and this is the sixth month with her, who was called barren. %%% Laba, Erisabesi muganda wo, era ye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe; guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba. 42LUK001.037 For with God nothing shall be impossible. %%% Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi. 42LUK001.038 And Mary said, Behold the handmaid of the Lord; be it unto me according to thy word. And the angel departed from her. %%% Malyamu n'agamba nti Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye. Awo malayika n'ava gy'ali. 42LUK001.039 And Mary arose in those days, and went into the hill country with haste, into a city of Juda; %%% Awo mu nnaku ezo Malyamu n'ayimuka n'agenda mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; 42LUK001.040 And entered into the house of Zacharias, and saluted Elisabeth. %%% n'ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. 42LUK001.041 And it came to pass, that, when Elisabeth heard the salutation of Mary, the babe leaped in her womb; and Elisabeth was filled with the Holy Ghost: %%% Awo olwatuuka Erisabesi bwe yawulira okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwe; Erisabesi n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu; 42LUK001.042 And she spake out with a loud voice, and said, Blessed art thou among women, and blessed is the fruit of thy womb. %%% n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa. 42LUK001.043 And whence is this to me, that the mother of my Lord should come to me? %%% Nange nno, ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi? 42LUK001.044 For, lo, as soon as the voice of thy salutation sounded in mine ears, the babe leaped in my womb for joy. %%% Kubanga laba, eddoboozi ly'okulamusa kwo bwe liyingidde mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwange, olw'essanyu. 42LUK001.045 And blessed is she that believed: for there shall be a performance of those things which were told her from the Lord. %%% Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wagambibwa Mukama. 42LUK001.046 And Mary said, My soul doth magnify the Lord, %%% Malyamu n'agamba nti Emmeeme yange etendereza Mukama, 42LUK001.047 And my spirit hath rejoiced in God my Saviour. %%% N'omwoyo gwange gusanyukidde Katonda Omulokozi wange. 42LUK001.048 For he hath regarded the low estate of his handmaiden: for, behold, from henceforth all generations shall call me blessed. %%% Kubanga alabye obunaku bw’omuzaana we: Kubanga, laba, okusooka leero ab’emirembe gyonna banampitanga aweeredawa omukisa. 42LUK001.049 For he that is mighty hath done to me great things; and holy is his name. %%% Kubanga Omuyinza ankoledde ebikulu; N'erinnya ly'ettukuvu. 42LUK001.050 And his mercy is on them that fear him from generation to generation. %%% N'ekisa kye kiri mu bamutya; Emirembe n'emirembe. 42LUK001.051 He hath shewed strength with his arm; he hath scattered the proud in the imagination of their hearts. %%% Alaze amaanyi n'omukono gwe; Asaasaanyizza abalina amalala mu kuteerera kw'omu mitima gyabwe. 42LUK001.052 He hath put down the mighty from their seats, and exalted them of low degree. %%% Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe, Agulumizizza abeetoowaze. 42LUK001.053 He hath filled the hungry with good things; and the rich he hath sent empty away. %%% Abalina enjala abakkusizza ebirungi; N'abagagga abagobye nga tebalina kintu. 42LUK001.054 He hath holpen his servant Israel, in remembrance of his mercy; %%% Abedde Isiraeri omuddu we Ajjukire ekisa kye. 42LUK001.055 As he spake to our fathers, to Abraham, and to his seed for ever. %%% (Nga bwe yagamba bajjajjaffe) Eri Ibulayimu n'ezzadde lye, emirembe gyonna. 42LUK001.056 And Mary abode with her about three months, and returned to her own house. %%% Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'esatu, n'akomawo ewuwe. 42LUK001.057 Now Elisabeth's full time came that she should be delivered; and she brought forth a son. %%% Awo ebiro bya Erisabesi ne bituuka okuzaala: n'azaala omwana wa bulenzi. 42LUK001.058 And her neighbours and her cousins heard how the Lord had shewed great mercy upon her; and they rejoiced with her. %%% Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amugulumiririzza ekisa kye, ne basanyukira wamu naye. 42LUK001.059 And it came to pass, that on the eighth day they came to circumcise the child; and they called him Zacharias, after the name of his father. %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 42LUK001.060 And his mother answered and said, Not so; but he shall be called John. %%% Nnyina n'addamu nagamba nti Nedda, naye anaatuumibwa Yokaana. 42LUK001.061 And they said unto her, There is none of thy kindred that is called by this name. %%% Ne bamugamba nti Tewali wa mu kika kyo ayitibwa linnya eryo. 42LUK001.062 And they made signs to his father, how he would have him called. %%% Ne bawenya kitaawe, bw'ayagala okumutuuma. 42LUK001.063 And he asked for a writing table, and wrote, saying, His name is John. And they marvelled all. %%% N'ayagala ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika, n'agamba nti Erinnya lye Yokaana. Ne beewuunya bonna. 42LUK001.064 And his mouth was opened immediately, and his tongue loosed, and he spake, and praised God. %%% Amangu ago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera nga yeebaza Katonda. 42LUK001.065 And fear came on all that dwelt round about them: and all these sayings were noised abroad throughout all the hill country of Judaea. %%% Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey'ensozi ey'e Buyudaaya. 42LUK001.066 And all they that heard them laid them up in their hearts, saying, What manner of child shall this be! And the hand of the Lord was with him. %%% Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti Kale omwana oyo aliba ki? kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye. 42LUK001.067 And his father Zacharias was filled with the Holy Ghost, and prophesied, saying, %%% Kitaawe Zaakaliya n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, n'alagula, ng'agamba nti 42LUK001.068 Blessed be the Lord God of Israel; for he hath visited and redeemed his people, %%% Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri; Kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde, 42LUK001.069 And hath raised up an horn of salvation for us in the house of his servant David; %%% Era atuyimusirizza ejjembe ery'obulokozi Mu nnyumba y'omuddu we Dawudi. 42LUK001.070 As he spake by the mouth of his holy prophets, which have been since the world began: %%% (Nga bwe yayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu, abaaliwo kasookedde ensi ebaawo), 42LUK001.071 That we should be saved from our enemies, and from the hand of all that hate us; %%% Okulokolebwa mu balabe baffe; ne mu mikono gy'abo bonna abatukyawa; 42LUK001.072 To perform the mercy promised to our fathers, and to remember his holy covenant; %%% Okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe, N'okujjukira endagaano ye entukuvu. 42LUK001.073 The oath which he sware to our father Abraham, %%% Okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu, 42LUK001.074 That he would grant unto us, that we being delivered out of the hand of our enemies might serve him without fear, %%% Okukituwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baffe, Tulyoke tumuweereze nga tetuliko kye tutya, 42LUK001.075 In holiness and righteousness before him, all the days of our life. %%% Mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna. 42LUK001.076 And thou, child, shalt be called the prophet of the Highest: for thou shalt go before the face of the Lord to prepare his ways; %%% Naawe, omwana, oliyitibwa naabbi w'Oyo Ali waggulu ennyo: Kubanga olikulembera Mukama okulongoosa amakubo ge; 42LUK001.077 To give knowledge of salvation unto his people by the remission of their sins, %%% Okumanyisa abantu be obulokozi, Ebibi byabwe bibaggibweko, 42LUK001.078 Through the tender mercy of our God; whereby the dayspring from on high hath visited us, %%% Olw'ekisa kya Katonda waffe ekirungi, Emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu, 42LUK001.079 To give light to them that sit in darkness and in the shadow of death, to guide our feet into the way of peace. %%% Okwakira abatuula mu nzikiza, ne mu kisiikirize ky'olumbe, Okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe. 42LUK001.080 And the child grew, and waxed strong in spirit, and was in the deserts till the day of his shewing unto Israel. %%% Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo; n'abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri. 42LUK002.001 And it came to pass in those days, that there went out a decree from Caesar Augustus, that all the world should be taxed. %%% Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito ab'ensi zonna okuwandiikibwa. 42LUK002.002 (And this taxing was first made when Cyrenius was governor of Syria.) %%% Okwo kwe kuwandiikibwa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli. 42LUK002.003 And all went to be taxed, every one into his own city. %%% Bonna ne bagenda okwewandiika, buli muntu mu kibuga kyabo. 42LUK002.004 And Joseph also went up from Galilee, out of the city of Nazareth, into Judaea, unto the city of David, which is called Bethlehem; (because he was of the house and lineage of David:) %%% Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'alinnya e Buyudaaya, okugenda mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu, kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi, 42LUK002.005 To be taxed with Mary his espoused wife, being great with child. %%% yeewandiike ne Malyamu, gwe yali ayogereza, ng'ali lubuto. 42LUK002.006 And so it was, that, while they were there, the days were accomplished that she should be delivered. %%% Awo olwatuuka baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka. 42LUK002.007 And she brought forth her firstborn son, and wrapped him in swaddling clothes, and laid him in a manger; because there was no room for them in the inn. %%% N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaalaba bbanga mu kisulo ky'abagenyi. 42LUK002.008 And there were in the same country shepherds abiding in the field, keeping watch over their flock by night. %%% Waaliwo abasumba mu nsi eyo abaatuulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo. 42LUK002.009 And, lo, the angel of the Lord came upon them, and the glory of the Lord shone round about them: and they were sore afraid. %%% Awo malayika wa Mukama n'ayimirira we baali, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasamasa, ne batya nnyo. 42LUK002.010 And the angel said unto them, Fear not: for, behold, I bring you good tidings of great joy, which shall be to all people. %%% Malayika n'abagamba nu Temutya; kubanga, laba, mbaleetera ebigambo ebirungi eby'essanyu eringi eririba eri abantu bonna: 42LUK002.011 For unto you is born this day in the city of David a Saviour, which is Christ the Lord. %%% kubaaga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, ye Kristo Mukama waffe. 42LUK002.012 And this shall be a sign unto you; Ye shall find the babe wrapped in swaddling clothes, lying in a manger. %%% Kano ke kabonero gye muli; munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo. 42LUK002.013 And suddenly there was with the angel a multitude of the heavenly host praising God, and saying, %%% Awo amangu ago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti 42LUK002.014 Glory to God in the highest, and on earth peace, good will toward men. %%% Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa. 42LUK002.015 And it came to pass, as the angels were gone away from them into heaven, the shepherds said one to another, Let us now go even unto Bethlehem, and see this thing which is come to pass, which the Lord hath made known unto us. %%% Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti Kale tugende e Besirekemu tulabe ekigambo kino ekibaddeyo, Mukama ky'atutegeezezza. 42LUK002.016 And they came with haste, and found Mary, and Joseph, and the babe lying in a manger. %%% Ne bajja mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo. 42LUK002.017 And when they had seen it, they made known abroad the saying which was told them concerning this child. %%% Awo bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baabuulirwa ku mwana oyo. 42LUK002.018 And all they that heard it wondered at those things which were told them by the shepherds. %%% Bonna abaawulira ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuulira. 42LUK002.019 But Mary kept all these things, and pondered them in her heart. %%% Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna, ng'abirowooza mu mutima gwe. 42LUK002.020 And the shepherds returned, glorifying and praising God for all the things that they had heard and seen, as it was told unto them. %%% Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, bye baalaba, nga bwe baabuulirwa. 42LUK002.021 And when eight days were accomplished for the circumcising of the child, his name was called JESUS, which was so named of the angel before he was conceived in the womb. %%% Awo ennaku Omunaana bwe zaatuuka ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa erinnya lye Yesu, liri eryayogerwa malayika nga tannaba kuba mu lubuto. 42LUK002.022 And when the days of her purification according to the law of Moses were accomplished, they brought him to Jerusalem, to present him to the Lord; %%% Awo ennaku bwe zaatuuka ez'okulongooka kwabwe ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne bamutwala ne bamwambusa e Yerusaalemi: okumwanjulira Mukama 42LUK002.023 (As it is written in the law of the LORD, Every male that openeth the womb shall be called holy to the Lord;) %%% (nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama nti Buli kisajja ekiggulanda kinaayitibwanga kitukuvu eri Mukama), 42LUK002.024 And to offer a sacrifice according to that which is said in the law of the Lord, A pair of turtledoves, or two young pigeons. %%% n'okuwaayo asaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri. 42LUK002.025 And, behold, there was a man in Jerusalem, whose name was Simeon; and the same man was just and devout, waiting for the consolation of Israel: and the Holy Ghost was upon him. %%% Era, laba, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi erinnya lye Simyoni, omuntu oyo yali mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okusanyusibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yali ku ye. 42LUK002.026 And it was revealed unto him by the Holy Ghost, that he should not see death, before he had seen the Lord's Christ. %%% Oyo yabikkulirwa Omwoyo Omutukuvu nti taliraba kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama. 42LUK002.027 And he came by the Spirit into the temple: and when the parents brought in the child Jesus, to do for him after the custom of the law, %%% N'ajjira mu Mwoyo mu yeekaalu: abakadde be bwe baayingiza omwana Yesu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka, 42LUK002.028 Then took he him up in his arms, and blessed God, and said, %%% awo ye n'amukwata mu mikono gye, ne yeebaza Katonda n'agamba nti 42LUK002.029 Lord, now lettest thou thy servant depart in peace, according to thy word: %%% Mukama wange, kaakano osiibula omuddu wo Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali. 42LUK002.030 For mine eyes have seen thy salvation, %%% Kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo, 42LUK002.031 Which thou hast prepared before the face of all people; %%% Bwe wateekateeka mu maaso g'abantu bonna: 42LUK002.032 A light to lighten the Gentiles, and the glory of thy people Israel. %%% Okuba omusana ogw'okumulisa amawanga, N'okuba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri. 42LUK002.033 And Joseph and his mother marvelled at those things which were spoken of him. %%% Kitaawe ne nnyina ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamwogerwako; 42LUK002.034 And Simeon blessed them, and said unto Mary his mother, Behold, this child is set for the fall and rising again of many in Israel; and for a sign which shall be spoken against; %%% awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa; 42LUK002.035 (Yea, a sword shall pierce through thy own soul also,) that the thoughts of many hearts may be revealed. %%% era ggwe ekitala kirikufumita mu mmeeme; ebirowoozo eby'emitima emingi bityoke bibikkulwe. 42LUK002.036 And there was one Anna, a prophetess, the daughter of Phanuel, of the tribe of Aser: she was of a great age, and had lived with an husband seven years from her virginity; %%% Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri (yali Yaakamala emyaka mingi, yabeera ne bba emyaka musanvu okuva mu buto bwe, 42LUK002.037 And she was a widow of about fourscore and four years, which departed not from the temple, but served God with fastings and prayers night and day. %%% naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena), ataavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana. 42LUK002.038 And she coming in that instant gave thanks likewise unto the Lord, and spake of him to all them that looked for redemption in Jerusalem. %%% Oyo bwe yajja mu kiseera ekyo ne yeebaza Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi. 42LUK002.039 And when they had performed all things according to the law of the Lord, they returned into Galilee, to their own city Nazareth. %%% Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya mu kibuga ky'ewaabwe Nazaaleesi. 42LUK002.040 And the child grew, and waxed strong in spirit, filled with wisdom: and the grace of God was upon him. %%% Awo omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi, n'ajjuzibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibanga ku ye. 42LUK002.041 Now his parents went to Jerusalem every year at the feast of the passover. %%% Awo bakadde be baagendanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okuyitako. 42LUK002.042 And when he was twelve years old, they went up to Jerusalem after the custom of the feast. %%% Awo bwe yali Yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, ne bayambuka nga bw'eri empisa y'embaga: 42LUK002.043 And when they had fulfilled the days, as they returned, the child Jesus tarried behind in Jerusalem; and Joseph and his mother knew not of it. %%% awo bwe baatuusa ennaku zaabwe, baali nga baddayo, omwana oyo yesu n'asigala mu Yerusaalemi, ne bakadde be ne batamanya; 42LUK002.044 But they, supposing him to have been in the company, went a day's journey; and they sought him among their kinsfolk and acquaintance. %%% naye bwe baalowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, ne batambula olugendo lwa lunaku lumu, ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe: 42LUK002.045 And when they found him not, they turned back again to Jerusalem, seeking him. %%% bwe bataamulaba ne baddayo e Yerusaalemi, nga bamunoonya. 42LUK002.046 And it came to pass, that after three days they found him in the temple, sitting in the midst of the doctors, both hearing them, and asking them questions. %%% Awo olwatuuka bwe waayitawo ennaku ssatu ne bamusanga mu yeekaalu, ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza, ng'ababuuza 42LUK002.047 And all that heard him were astonished at his understanding and answers. %%% bonna abaamuwulira ne bawunikirira olw'amagezi ge n'okuddamu kwe. 42LUK002.048 And when they saw him, they were amazed: and his mother said unto him, Son, why hast thou thus dealt with us? behold, thy father and I have sought thee sorrowing. %%% Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti Mwana wange, kiki ekitukozezza ggwe bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde. 42LUK002.049 And he said unto them, How is it that ye sought me? wist ye not that I must be about my Father's business? %%% N'abagamba nti Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu bigambo bya Kitange? 42LUK002.050 And they understood not the saying which he spake unto them. %%% Ne batategeera kigambo ekyo kye yabagamba. 42LUK002.051 And he went down with them, and came to Nazareth, and was subject unto them: but his mother kept all these sayings in her heart. %%% N'aserengeta nabo n'ajja e Nazaaleesi, n'abagonderanga: nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe. 42LUK002.052 And Jesus increased in wisdom and stature, and in favour with God and man. %%% Awo Yesu ne yeeyongerangako amagezi n'okukula, ne mu kisa eri Katonda n'eri abantu. 42LUK003.001 Now in the fifteenth year of the reign of Tiberius Caesar, Pontius Pilate being governor of Judaea, and Herod being tetrarch of Galilee, and his brother Philip tetrarch of Ituraea and of the region of Trachonitis, and Lysanias the tetrarch of Abilene, %%% Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ku mirembe gya Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye wessaza ly'e Buyudaaya, ne Kerode bwe yali nga y'afuga e Ggaliraaya, ne Firipo muganda we bwe yali nga y'afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yali nga y'afuga Abireene; 42LUK003.002 Annas and Caiaphas being the high priests, the word of God came unto John the son of Zacharias in the wilderness. %%% ne Ana ne Kayaafa bwe baali nga be bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu ddungu. 42LUK003.003 And he came into all the country about Jordan, preaching the baptism of repentance for the remission of sins; %%% N'ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggibwako ebibi; 42LUK003.004 As it is written in the book of the words of Esaias the prophet, saying, The voice of one crying in the wilderness, Prepare ye the way of the Lord, make his paths straight. %%% nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge. 42LUK003.005 Every valley shall be filled, and every mountain and hill shall be brought low; and the crooked shall be made straight, and the rough ways shall be made smooth; %%% Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamye kirigololwa, N'amakubo agatali masende galitereezebwa; 42LUK003.006 And all flesh shall see the salvation of God. %%% N'abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda. 42LUK003.007 Then said he to the multitude that came forth to be baptized of him, O generation of vipers, who hath warned you to flee from the wrath to come? %%% Awo n'agamba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa ye nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 42LUK003.008 Bring forth therefore fruits worthy of repentance, and begin not to say within yourselves, We have Abraham to our father: for I say unto you, That God is able of these stones to raise up children unto Abraham. %%% Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana. 42LUK003.009 And now also the axe is laid unto the root of the trees: every tree therefore which bringeth not forth good fruit is hewn down, and cast into the fire. %%% Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro. 42LUK003.010 And the people asked him, saying, What shall we do then? %%% Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti Kale tukole ki? 42LUK003.011 He answereth and saith unto them, He that hath two coats, let him impart to him that hath none; and he that hath meat, let him do likewise. %%% N'addamu n'abagamba nti Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n'alina emmere akole bw'atyo. 42LUK003.012 Then came also publicans to be baptized, and said unto him, Master, what shall we do? %%% N'abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamugamba nti Omuyigiriza tukole ki? 42LUK003.013 And he said unto them, Exact no more than that which is appointed you. %%% N'abagamba nti Temusoloozanga kusukkiriza okusinga bwe mwalagirwa. 42LUK003.014 And the soldiers likewise demanded of him, saying, And what shall we do? And he said unto them, Do violence to no man, neither accuse any falsely; and be content with your wages. %%% Era basserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti Naffe tukole ki? n'abagamba nti Temujooganga muntu so temukakanga; era empeera yammwe ebamalenga. 42LUK003.015 And as the people were in expectation, and all men mused in their hearts of John, whether he were the Christ, or not; %%% Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu mitima gyabwe oba nga mpozzi ye Kristo; 42LUK003.016 John answered, saying unto them all, I indeed baptize you with water; but one mightier than I cometh, the latchet of whose shoes I am not worthy to unloose: he shall baptize you with the Holy Ghost and with fire: %%% Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro: 42LUK003.017 Whose fan is in his hand, and he will throughly purge his floor, and will gather the wheat into his garner; but the chaff he will burn with fire unquenchable. %%% olugali lwe luli mu mukono gwe, okulongoosa ennyo egguuliro lye, n'okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika lye; naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira. 42LUK003.018 And many other things in his exhortation preached he unto the people. %%% Era n'ababuulirira ebirala bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebirungi; 42LUK003.019 But Herod the tetrarch, being reproved by him for Herodias his brother Philip's wife, and for all the evils which Herod had done, %%% naye Kerode owessaza, bwe yamunenya olwa Kerodiya muka muganda we, n'olw'ebigambo ebibi byonna Kerode bye yakola, 42LUK003.020 Added yet this above all, that he shut up John in prison. %%% ate ku ebyo byonna n'ayongerako kino, n'akwata Yokaana n'amussa mu kkomera. 42LUK003.021 Now when all the people were baptized, it came to pass, that Jesus also being baptized, and praying, the heaven was opened, %%% Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka. 42LUK003.022 And the Holy Ghost descended in a bodily shape like a dove upon him, and a voice came from heaven, which said, Thou art my beloved Son; in thee I am well pleased. %%% Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nti Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo. 42LUK003.023 And Jesus himself began to be about thirty years of age, being (as was supposed) the son of Joseph, which was the son of Heli, %%% Era Yesu yennyini, bwe yasooka okuyigiriza, yali yaakamala emyaka ng'amakumi asatu nga ye mwana (nga bwe yalowoozebwa) owa Yusufu, mwana wa Eri, 42LUK003.024 Which was the son of Matthat, which was the son of Levi, which was the son of Melchi, which was the son of Janna, which was the son of Joseph, %%% mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu, 42LUK003.025 Which was the son of Mattathias, which was the son of Amos, which was the son of Naum, which was the son of Esli, which was the son of Nagge, %%% mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakkumu, mwana wa Esuli, mwana wa Naggayi, 42LUK003.026 Which was the son of Maath, which was the son of Mattathias, which was the son of Semei, which was the son of Joseph, which was the son of Juda, %%% mwana wa Maasi, mwana wa Mattasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda, 42LUK003.027 Which was the son of Joanna, which was the son of Rhesa, which was the son of Zorobabel, which was the son of Salathiel, which was the son of Neri, %%% mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubbaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri, 42LUK003.028 Which was the son of Melchi, which was the son of Addi, which was the son of Cosam, which was the son of Elmodam, which was the son of Er, %%% mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri, 42LUK003.029 Which was the son of Jose, which was the son of Eliezer, which was the son of Jorim, which was the son of Matthat, which was the son of Levi, %%% mwana wa Yesu, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, 42LUK003.030 Which was the son of Simeon, which was the son of Juda, which was the son of Joseph, which was the son of Jonan, which was the son of Eliakim, %%% mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yoaamu, mwana wa Eriyakimu, 42LUK003.031 Which was the son of Melea, which was the son of Menan, which was the son of Mattatha, which was the son of Nathan, which was the son of David, %%% mwana wa Mereya, mwana wa Menna, mwana wa Mattasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi, 42LUK003.032 Which was the son of Jesse, which was the son of Obed, which was the son of Booz, which was the son of Salmon, which was the son of Naasson, %%% mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni,mwana wa Nakusoni, 42LUK003.033 Which was the son of Aminadab, which was the son of Aram, which was the son of Esrom, which was the son of Phares, which was the son of Juda, %%% mwana wa Amminadaabu, mwana wa Aluni, mwama wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda, 42LUK003.034 Which was the son of Jacob, which was the son of Isaac, which was the son of Abraham, which was the son of Thara, which was the son of Nachor, %%% mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli, 42LUK003.035 Which was the son of Saruch, which was the son of Ragau, which was the son of Phalec, which was the son of Heber, which was the son of Sala, %%% mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera, 42LUK003.036 Which was the son of Cainan, which was the son of Arphaxad, which was the son of Sem, which was the son of Noe, which was the son of Lamech, %%% mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameki; 42LUK003.037 Which was the son of Mathusala, which was the son of Enoch, which was the son of Jared, which was the son of Maleleel, which was the son of Cainan, %%% mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleeri, mwana wa Kayinaani, 42LUK003.038 Which was the son of Enos, which was the son of Seth, which was the son of Adam, which was the son of God. %%% mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda. 42LUK004.001 And Jesus being full of the Holy Ghost returned from Jordan, and was led by the Spirit into the wilderness, %%% Awo Yesu bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu n'akomawo ng'ava ku Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu ddungu, 42LUK004.002 Being forty days tempted of the devil. And in those days he did eat nothing: and when they were ended, he afterward hungered. %%% n'amalayo ennaku amakumi ana, ng'akemebwa Setaani. So teyalyanga kintu mu nnaku ezo; awo bwe zaggwa, enjala n'emuluma. 42LUK004.003 And the devil said unto him, If thou be the Son of God, command this stone that it be made bread. %%% Setaani n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere. 42LUK004.004 And Jesus answered him, saying, It is written, That man shall not live by bread alone, but by every word of God. %%% Yesu n'amuddamu nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka. 42LUK004.005 And the devil, taking him up into an high mountain, shewed unto him all the kingdoms of the world in a moment of time. %%% N'amulinnyisa; n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono. 42LUK004.006 And the devil said unto him, All this power will I give thee, and the glory of them: for that is delivered unto me; and to whomsoever I will I give it. %%% Setaani n'amugamba nti Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala. 42LUK004.007 If thou therefore wilt worship me, all shall be thine. %%% Kale bw'onoosinza mu maaso gange, buno bwonna bunaaba bubwo. 42LUK004.008 And Jesus answered and said unto him, Get thee behind me, Satan: for it is written, Thou shalt worship the Lord thy God, and him only shalt thou serve. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, gw'oweerezanga yekka. 42LUK004.009 And he brought him to Jerusalem, and set him on a pinnacle of the temple, and said unto him, If thou be the Son of God, cast thyself down from hence: %%% N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yima wano, weesuule wansi; 42LUK004.010 For it is written, He shall give his angels charge over thee, to keep thee: %%% kubanga kyawandiikibwa nti Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala; 42LUK004.011 And in their hands they shall bear thee up, lest at any time thou dash thy foot against a stone. %%% Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja. 42LUK004.012 And Jesus answering said unto him, It is said, Thou shalt not tempt the Lord thy God. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyayogerwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo. 42LUK004.013 And when the devil had ended all the temptation, he departed from him for a season. %%% Setaani bwe yamala buli kikemo n'amulekako ekiseera. 42LUK004.014 And Jesus returned in the power of the Spirit into Galilee: and there went out a fame of him through all the region round about. %%% Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo. 42LUK004.015 And he taught in their synagogues, being glorified of all. %%% N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe bonna nga bamutendereza. 42LUK004.016 And he came to Nazareth, where he had been brought up: and, as his custom was, he went into the synagogue on the sabbath day, and stood up for to read. %%% N'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma. 42LUK004.017 And there was delivered unto him the book of the prophet Esaias. And when he had opened the book, he found the place where it was written, %%% Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'alaba ekitundu awaawandiikibwa nti 42LUK004.018 The Spirit of the Lord is upon me, because he hath anointed me to preach the gospel to the poor; he hath sent me to heal the brokenhearted, to preach deliverance to the captives, and recovering of sight to the blind, to set at liberty them that are bruised, %%% Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi: Antumye okutendera abanyage okuteebwa, N'okuzibula abazibe b'amaaso, Okubata ababetentebwa, 42LUK004.019 To preach the acceptable year of the Lord. %%% Okutendera omwaka gwa Mukama ogwakkirizibwa. 42LUK004.020 And he closed the book, and he gave it again to the minister, and sat down. And the eyes of all them that were in the synagogue were fastened on him. %%% N'abikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza n'atuula; abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamusimbako amaaso. 42LUK004.021 And he began to say unto them, This day is this scripture fulfilled in your ears. %%% N'atanula okubagamba nti Leero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe: 42LUK004.022 And all bare him witness, and wondered at the gracious words which proceeded out of his mouth. And they said, Is not this Joseph's son? %%% Bonna ne bamutegereza, ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti Ono si ye Mwana wa Yusufu? 42LUK004.023 And he said unto them, Ye will surely say unto me this proverb, Physician, heal thyself: whatsoever we have heard done in Capernaum, do also here in thy country. %%% N'abagamba nti Temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo kyannyo. 42LUK004.024 And he said, Verily I say unto you, No prophet is accepted in his own country. %%% N'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo kyabo. 42LUK004.025 But I tell you of a truth, many widows were in Israel in the days of Elias, when the heaven was shut up three years and six months, when great famine was throughout all the land; %%% Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu mu emyezi mukaaga, enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna; 42LUK004.026 But unto none of them was Elias sent, save unto Sarepta, a city of Sidon, unto a woman that was a widow. %%% Eriya teyatumibwa eri omu ku bo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukazi nnamwandu. 42LUK004.027 And many lepers were in Israel in the time of Eliseus the prophet; and none of them was cleansed, saving Naaman the Syrian. %%% Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biro bya Erisa nnabbi; tewali n'omu ku bo eyalongoosebwa, wabula Naamani yekka Omusuuli. 42LUK004.028 And all they in the synagogue, when they heard these things, were filled with wrath, %%% Ne bajjula obusungu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebigambo ebyo; 42LUK004.029 And rose up, and thrust him out of the city, and led him unto the brow of the hill whereon their city was built, that they might cast him down headlong. %%% ne bayimuka, ne bamusindikira ebweru w'ekibuga ne bamutwala ku bbanga ly'olusozi lwe baakubako ekibuga kyabwe, bamusuule wansi. 42LUK004.030 But he passing through the midst of them went his way, %%% Naye n'abayitamu wakati n'agenda. 42LUK004.031 And came down to Capernaum, a city of Galilee, and taught them on the sabbath days. %%% N'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti: 42LUK004.032 And they were astonished at his doctrine: for his word was with power. %%% ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza. 42LUK004.033 And in the synagogue there was a man, which had a spirit of an unclean devil, and cried out with a loud voice, %%% Awo mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko dayimooni; n'akaaba n'eddoboozi ddene 42LUK004.034 Saying, Let us alone; what have we to do with thee, thou Jesus of Nazareth? art thou come to destroy us? I know thee who thou art; the Holy One of God. %%% nti Woowe, Otuvunaana ki ggwe, Yesu Omunazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda. 42LUK004.035 And Jesus rebuked him, saying, Hold thy peace, and come out of him. And when the devil had thrown him in the midst, he came out of him, and hurt him not. %%% Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti Sirika, muveeko. Dayimooni bwe yamusuula wakati n'amuvaako nga tamukoze kabi. 42LUK004.036 And they were all amazed, and spake among themselves, saying, What a word is this! for with authority and power he commandeth the unclean spirits, and they come out. %%% Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Kigambo ki kino? kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bavaako. 42LUK004.037 And the fame of him went out into every place of the country round about. %%% Ettutumu lye ne lyatiikirira mu buli kifo eky'ensi eriraanyeewo. 42LUK004.038 And he arose out of the synagogue, and entered into Simon's house. And Simon's wife's mother was taken with a great fever; and they besought him for her. %%% N'ayimuka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyina mukazi wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe. 42LUK004.039 And he stood over her, and rebuked the fever; and it left her: and immediately she arose and ministered unto them. %%% N'ayimirira w'ali, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako amangu ago n'agolokoka n'abaweereza. 42LUK004.040 Now when the sun was setting, all they that had any sick with divers diseases brought them unto him; and he laid his hands on every one of them, and healed them. %%% Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, buli omu ku abo n'amussaako emikono gye, n'abawonya. 42LUK004.041 And devils also came out of many, crying out, and saying, Thou art Christ the Son of God. And he rebuking them suffered them not to speak: for they knew that he was Christ. %%% Ne badayimooni ne babavaako bangi, ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe oli Mwana wa Katonda: N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga Ye Kristo: 42LUK004.042 And when it was day, he departed and went into a desert place: and the people sought him, and came unto him, and stayed him, that he should not depart from them. %%% Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo etali bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, ne baagala okumugaana aleme okubavaako. 42LUK004.043 And he said unto them, I must preach the kingdom of God to other cities also: for therefore am I sent. %%% Naye n'abagamba nti Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya. 42LUK004.044 And he preached in the synagogues of Galilee. %%% Awo nabuuliranga mu makuŋŋaaniro g'e Ggaliraaya. 42LUK005.001 And it came to pass, that, as the people pressed upon him to hear the word of God, he stood by the lake of Gennesaret, %%% Awo olwatuuka ebibiina bwe byamunyigiriza ne bawulira ekigambo kya Katonda, ye yali ng'ayimiridde ku nnyanja y'e Genesaleeti; 42LUK005.002 And saw two ships standing by the lake: but the fishermen were gone out of them, and were washing their nets. %%% n'alaba amaato abiri nga gali ku nnyanja: naye abavubi baali bagavuddemu nga bayoza emigonjo gyabwe. 42LUK005.003 And he entered into one of the ships, which was Simon's, and prayed him that he would thrust out a little from the land. And he sat down, and taught the people out of the ship. %%% N'asaabalako eryato erimu, eryali erya Simooni; n'amugamba okulisembezaayo katono okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiririza ebibiina mu lyato. 42LUK005.004 Now when he had left speaking, he said unto Simon, Launch out into the deep, and let down your nets for a draught. %%% Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti Sembera ebuziba, musuule emigonjo gyammwe, muvube. 42LUK005.005 And Simon answering said unto him, Master, we have toiled all the night, and have taken nothing: nevertheless at thy word I will let down the net. %%% Simooni n'addamu n'agamba nti Omwami, twategaaye okukeesa obudde ne tutakwasa kintu: naye olw'ekigambo kyo nnaasuula emigonjo. 42LUK005.006 And when they had this done, they inclosed a great multitude of fishes: and their net brake. %%% Awo bwe baakola bwe batyo, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo nnyini; emigonjo gyabwe ne gyagala okukutuka; 42LUK005.007 And they beckoned unto their partners, which were in the other ship, that they should come and help them. And they came, and filled both the ships, so that they began to sink. %%% ne bawenya bannaabwe mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja ne bajjuza amaato gombi, n'okukka ne gaagala okukka. 42LUK005.008 When Simon Peter saw it, he fell down at Jesus' knees, saying, Depart from me; for I am a sinful man, O Lord. %%% Naye Simooni Peetero, bwe yalaba, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'agamba nti Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibi, Mukama wange. 42LUK005.009 For he was astonished, and all that were with him, at the draught of the fishes which they had taken: %%% Kubanga yawuniikirira ne bonna abaali naye olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa; 42LUK005.010 And so was also James, and John, the sons of Zebedee, which were partners with Simon. And Jesus said unto Simon, Fear not; from henceforth thou shalt catch men. %%% ne Yakobo ne Yokaana nabo bwe batyo, abaana ba Zebbedaayo, abaali bassizza ekimu ne Simooni. Yesu n'agamba Simooni nti Totya: okusooka kaakano onoovubanga abantu. 42LUK005.011 And when they had brought their ships to land, they forsook all, and followed him. %%% Awo bwe baagobya amaato gaabwe ettale, ne baleka byonna, ne bagenda naye. 42LUK005.012 And it came to pass, when he was in a certain city, behold a man full of leprosy: who seeing Jesus fell on his face, and besought him, saying, Lord, if thou wilt, thou canst make me clean. %%% Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga kimu mu ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa. 42LUK005.013 And he put forth his hand, and touched him, saying, I will: be thou clean. And immediately the leprosy departed from him. %%% N'agolola omukono gwe n'amukomako ng'agamba nti Njagala, longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako. 42LUK005.014 And he charged him to tell no man: but go, and shew thyself to the priest, and offer for thy cleansing, according as Moses commanded, for a testimony unto them. %%% Ye n'amukuutira obutabuulirako muntu; naye genda, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagira, okuba omujulirwa gye bali. 42LUK005.015 But so much the more went there a fame abroad of him: and great multitudes came together to hear, and to be healed by him of their infirmities. %%% Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongezi okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 42LUK005.016 And he withdrew himself into the wilderness, and prayed. %%% Naye ye ne yeeyawula n'agenda mu malungu n'asaba. 42LUK005.017 And it came to pass on a certain day, as he was teaching, that there were Pharisees and doctors of the law sitting by, which were come out of every town of Galilee, and Judaea, and Jerusalem: and the power of the Lord was present to heal them. %%% Awo olwatuuka ku lunaku lumu mu ezo, yali ng'ayigiriza; n'Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya. 42LUK005.018 And, behold, men brought in a bed a man which was taken with a palsy: and they sought means to bring him in, and to lay him before him. %%% Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge. 42LUK005.019 And when they could not find by what way they might bring him in because of the multitude, they went upon the housetop, and let him down through the tiling with his couch into the midst before Jesus. %%% Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu. 42LUK005.020 And when he saw their faith, he said unto him, Man, thy sins are forgiven thee. %%% Awo bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba nti Omuntu, ebibi byo bikuggiddwako. 42LUK005.021 And the scribes and the Pharisees began to reason, saying, Who is this which speaketh blasphemies? Who can forgive sins, but God alone? %%% Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okuwakana, nga bagamba nti Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka? 42LUK005.022 But when Jesus perceived their thoughts, he answering said unto them, What reason ye in your hearts? %%% Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti Muwakana ki mu mitima gyammwe? 42LUK005.023 Whether is easier, to say, Thy sins be forgiven thee; or to say, Rise up and walk? %%% Ekyangu kiruwa, okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako; oba okugamba nti Golokoka, otambule? 42LUK005.024 But that ye may know that the Son of man hath power upon earth to forgive sins, (he said unto the sick of the palsy,) I say unto thee, Arise, and take up thy couch, and go into thine house. %%% Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi (n'agamba oyo eyali akoozimbye), Nkugamba nti Yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo. 42LUK005.025 And immediately he rose up before them, and took up that whereon he lay, and departed to his own house, glorifying God. %%% Amangu ago n'ayimuka mu maaso gaabwe, n'asitula ekyo kye yali agalamiddeko, n'agenda ewuwe, ng'agulumiza Katonda. 42LUK005.026 And they were all amazed, and they glorified God, and were filled with fear, saying, We have seen strange things to day. %%% Okuwuniikirira ne kubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; ne batya nnyo, nga bagamba nti Tulabye eby'ekitalo leero. 42LUK005.027 And after these things he went forth, and saw a publican, named Levi, sitting at the receipt of custom: and he said unto him, Follow me. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye Leevi, ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange. 42LUK005.028 And he left all, rose up, and followed him. %%% N'aleka byonna, n'agolokoka, n'ayita naye. 42LUK005.029 And Levi made him a great feast in his own house: and there was a great company of publicans and of others that sat down with them. %%% Leevi n'amufumbira embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere. 42LUK005.030 But their scribes and Pharisees murmured against his disciples, saying, Why do ye eat and drink with publicans and sinners? %%% Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi? 42LUK005.031 And Jesus answering said unto them, They that are whole need not a physician; but they that are sick. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwadde. 42LUK005.032 I came not to call the righteous, but sinners to repentance. %%% Nze sajja kuyita batuukirivu wabula abantu abalina ebibi okwenenya. 42LUK005.033 And they said unto him, Why do the disciples of John fast often, and make prayers, and likewise the disciples of the Pharisees; but thine eat and drink? %%% Nabo ne bamugamba nti Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo; naye ababo balya, banywa. 42LUK005.034 And he said unto them, Can ye make the children of the bridechamber fast, while the bridegroom is with them? %%% Yesu n'abagamba nti Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo? 42LUK005.035 But the days will come, when the bridegroom shall be taken away from them, and then shall they fast in those days. %%% Naye ennaku zirijja; awo awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba mu nnaku ezo. 42LUK005.036 And he spake also a parable unto them; No man putteth a piece of a new garment upon an old; if otherwise, then both the new maketh a rent, and the piece that was taken out of the new agreeth not with the old. %%% Era n'abagerera olugero nti Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola atyo, ekiggya kiyuza olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku luggya tekifaanana na lukadde. 42LUK005.037 And no man putteth new wine into old bottles; else the new wine will burst the bottles, and be spilled, and the bottles shall perish. %%% So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana. 42LUK005.038 But new wine must be put into new bottles; and both are preserved. %%% Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo ez'amaliba empya. 42LUK005.039 No man also having drunk old wine straightway desireth new: for he saith, The old is better. %%% So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti Omukulu gwe mulungi. 42LUK006.001 And it came to pass on the second sabbath after the first, that he went through the corn fields; and his disciples plucked the ears of corn, and did eat, rubbing them in their hands. %%% Awo olwatuuka ku ssabbiiti bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋaano; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya, nga bakunya mu ngalo zaabwe. 42LUK006.002 And certain of the Pharisees said unto them, Why do ye that which is not lawful to do on the sabbath days? %%% Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti Kiki ekibakoza eky'omuzizo okukolera ku ssabbiiti? 42LUK006.003 And Jesus answering them said, Have ye not read so much as this, what David did, when himself was an hungred, and they which were with him; %%% Yesu n'abaddamu n'agamba nti Era kino temukisomangako, Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala ye ne be yali nabo; 42LUK006.004 How he went into the house of God, and did take and eat the shewbread, and gave also to them that were with him; which it is not lawful to eat but for the priests alone? %%% bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, natoola emigaati egy'okulaga n'alya, era n'agiwa be yali nabo; egy'omuzizo okulya wabula bakabona bokka? 42LUK006.005 And he said unto them, That the Son of man is Lord also of the sabbath. %%% N'abagamba nti Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti. 42LUK006.006 And it came to pass also on another sabbath, that he entered into the synagogue and taught: and there was a man whose right hand was withered. %%% Awo olwatuuka ku ssabbiiti endala, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza; mwalimu omuntu omukono gwe ogwa ddyo gwali gukaze. 42LUK006.007 And the scribes and Pharisees watched him, whether he would heal on the sabbath day; that they might find an accusation against him. %%% Awo abawandiisi n'Abafalisaayo ne bamulabirira, oba ng'anaawonyeza ku ssabbiiti, balyoke balabe bwe banaamuloopa. 42LUK006.008 But he knew their thoughts, and said to the man which had the withered hand, Rise up, and stand forth in the midst. And he arose and stood forth. %%% Naye n'amanya ebirowoozo byabwe, n'agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti Golokoka, oyimirire wakati. N'agolokoka n'ayimirira. 42LUK006.009 Then said Jesus unto them, I will ask you one thing; Is it lawful on the sabbath days to do good, or to do evil? to save life, or to destroy it? %%% Awo Yesu n'abagamba nti Mbabuuza mmwe, Kirungi ku ssabbiiti okukola obulungi, oba kukola bubi, kuwonya bulamu oba kubuzikiriza? 42LUK006.010 And looking round about upon them all, he said unto the man, Stretch forth thy hand. And he did so: and his hand was restored whole as the other. %%% N'abeetoolooza amaaso bonna, n'amugamba nti Golola omukono gwo. N'akola bw'atyo; omukono gwe ne guwona. 42LUK006.011 And they were filled with madness; and communed one with another what they might do to Jesus. %%% Naye ne balaluka, ne boogera bokka na bokka bwe banaakola Yesu. 42LUK006.012 And it came to pass in those days, that he went out into a mountain to pray, and continued all night in prayer to God. %%% Awo olwatuuka mu nnaku ezo, n'avaayo n'agenda ku lusozi okusaba; n'akeesa obudde ng'asaba Katonda. 42LUK006.013 And when it was day, he called unto him his disciples: and of them he chose twelve, whom also he named apostles; %%% Awo obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be; mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'okuyita n'abayita abatume; 42LUK006.014 Simon, (whom he also named Peter,) and Andrew his brother, James and John, Philip and Bartholomew, %%% Simooni era gwe yatuuma Peetero, ne Andereya muganda we, ne Yakobo ne Yokaana, ne Firipo ne Battolomaayo, 42LUK006.015 Matthew and Thomas, James the son of Alphaeus, and Simon called Zelotes, %%% ne Matayo ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwa Zerote, 42LUK006.016 And Judas the brother of James, and Judas Iscariot, which also was the traitor. %%% ne Yuda muganda wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe; 42LUK006.017 And he came down with them, and stood in the plain, and the company of his disciples, and a great multitude of people out of all Judaea and Jerusalem, and from the sea coast of Tyre and Sidon, which came to hear him, and to be healed of their diseases; %%% n'akka nabo, n'ayimirira awatereevu, n'ekibiina kinene eky'abayigirizwa be n'abantu bangi abaava e Buyudaaya yonna n'e Yerusaalemi, n'abaava ku ttale ly'ennyanja ey'e Ttuulo n'e Sidoni, abajja okumuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe; 42LUK006.018 And they that were vexed with unclean spirits: and they were healed. %%% n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni ne bawonyezebwa. 42LUK006.019 And the whole multitude sought to touch him: for there went virtue out of him, and healed them all. %%% N'ekibiina kyonna ne kisala amagezi okumukomako obukomi: kubanga amaanyi gaavanga mu ye ne gabawonya bonna. 42LUK006.020 And he lifted up his eyes on his disciples, and said, Blessed be ye poor: for yours is the kingdom of God. %%% N'ayimusiza amaaso abayigirizwa be n'agamba nti Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda bwe bwammwe. 42LUK006.021 Blessed are ye that hunger now: for ye shall be filled. Blessed are ye that weep now: for ye shall laugh. %%% Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano; kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa, abakaaba kaakano; kubanga muliseka. 42LUK006.022 Blessed are ye, when men shall hate you, and when they shall separate you from their company, and shall reproach you, and cast out your name as evil, for the Son of man's sake. %%% Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe bagadyanga erinnya lyammwe nga bbi, okubavunaanya Omwana w'omuntu. 42LUK006.023 Rejoice ye in that day, and leap for joy: for, behold, your reward is great in heaven: for in the like manner did their fathers unto the prophets. %%% Musanyukanga ku lunaku olwo, mubuukanga olw'essanyu: kubanga, laba, empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi bwe batyo. 42LUK006.024 But woe unto you that are rich! for ye have received your consolation. %%% Naye zibasanze mmwe abagagga! kubanga mumaze okuba n'essanyu lyammwe. 42LUK006.025 Woe unto you that are full! for ye shall hunger. Woe unto you that laugh now! for ye shall mourn and weep. %%% Zibasanze mmwe abakkuse kaakano! kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano! kubanga mulinakuwala, mulikaaba. 42LUK006.026 Woe unto you, when all men shall speak well of you! for so did their fathers to the false prophets. %%% Zibasanze, abantu bonna bwe balibasiima! kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab'obulimba. 42LUK006.027 But I say unto you which hear, Love your enemies, do good to them which hate you, %%% Naye mbagamba mmwe abawulira nti Mwagalenga abalabe bammwe, mukolenga bulungi ababakyawa, 42LUK006.028 Bless them that curse you, and pray for them which despitefully use you. %%% musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababagirira ekyejo. 42LUK006.029 And unto him that smiteth thee on the one cheek offer also the other; and him that taketh away thy cloak forbid not to take thy coat also. %%% Oyo akukubanga oluba omukyusizanga n'olw'okubiri; n'akuggyangako omunagiro gwo, n'ekkanzu togimugaananga. 42LUK006.030 Give to every man that asketh of thee; and of him that taketh away thy goods ask them not again. %%% Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga nate. 42LUK006.031 And as ye would that men should do to you, do ye also to them likewise. %%% Era nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo. 42LUK006.032 For if ye love them which love you, what thank have ye? for sinners also love those that love them. %%% Kale bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? kubanga n'abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala. 42LUK006.033 And if ye do good to them which do good to you, what thank have ye? for sinners also do even the same. %%% Era bwe mukola obulungi ababakola obulungi mmwe, mwebazibwa ki? kubanga n'abantu abalina ebibi bakola bwe batyo. 42LUK006.034 And if ye lend to them of whom ye hope to receive, what thank have ye? for sinners also lend to sinners, to receive as much again. %%% Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? n'abantu abalina ebibi baazika abalina ebibi, era baweebwe bwe batyo. 42LUK006.035 But love ye your enemies, and do good, and lend, hoping for nothing again; and your reward shall be great, and ye shall be the children of the Highest: for he is kind unto the unthankful and to the evil. %%% Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga so temulekangayo kusuubira; n'empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b'Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n'ababi. 42LUK006.036 Be ye therefore merciful, as your Father also is merciful. %%% Mube n'ekisa, nga Kitammwe bw'alina ekisa. 42LUK006.037 Judge not, and ye shall not be judged: condemn not, and ye shall not be condemned: forgive, and ye shall be forgiven: %%% Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa: 42LUK006.038 Give, and it shall be given unto you; good measure, pressed down, and shaken together, and running over, shall men give into your bosom. For with the same measure that ye mete withal it shall be measured to you again. %%% mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa. 42LUK006.039 And he spake a parable unto them, Can the blind lead the blind? shall they not both fall into the ditch? %%% Era n'abagamba n'olugero, nti Omuzibe w'amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? tebagwa bombi mu bunnya? 42LUK006.040 The disciple is not above his master: but every one that is perfect shall be as his master. %%% Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza: naye buli muntu bw'alituukirizibwa aliba ng'amuyigiriza. 42LUK006.041 And why beholdest thou the mote that is in thy brother's eye, but perceivest not the beam that is in thine own eye? %%% Kiki ekikutunuuliza akantu akali ku liiso lya muganda wo, so tolowooza nialiiro eri ku liiso lyo ggwe? 42LUK006.042 Either how canst thou say to thy brother, Brother, let me pull out the mote that is in thine eye, when thou thyself beholdest not the beam that is in thine own eye? Thou hypocrite, cast out first the beam out of thine own eye, and then shalt thou see clearly to pull out the mote that is in thy brother's eye. %%% Oba oyinza otya okugamba muganda wo nti Muganda wange, ndeka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo, so nga tolaba njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu akali ku liiso lya muganda wo. 42LUK006.043 For a good tree bringeth not forth corrupt fruit; neither doth a corrupt tree bring forth good fruit. %%% Kubanga tewali muti mulungi ogubala ebibala ebibi, newakubadde omuti omubi ogubala ebibala ebirungi. 42LUK006.044 For every tree is known by his own fruit. For of thorns men do not gather figs, nor of a bramble bush gather they grapes. %%% Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mwera nannyo. 42LUK006.045 A good man out of the good treasure of his heart bringeth forth that which is good; and an evil man out of the evil treasure of his heart bringeth forth that which is evil: for of the abundance of the heart his mouth speaketh. %%% Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery'omutima gwe; n'omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera. 42LUK006.046 And why call ye me, Lord, Lord, and do not the things which I say? %%% Era mumpitira ki Mukama wammwe, Mukama wammwe, so nga temukola bigambo bye njogera? 42LUK006.047 Whosoever cometh to me, and heareth my sayings, and doeth them, I will shew you to whom he is like: %%% Buli muntu yenna ajja gye ndi n'awulira ebigambo byange n'abikola, nnaabalaga gw'afaanana: 42LUK006.048 He is like a man which built an house, and digged deep, and laid the foundation on a rock: and when the flood arose, the stream beat vehemently upon that house, and could not shake it: for it was founded upon a rock. %%% afaanana ng'omuntu azimba ennyumba n'asima wansi nnyo, omusingi n'agussa mu lwazi; awo amazzi bwe gayanjaala, omugga ne gukulukutira ku nnyumba eyo lwa maanyi okugisuula, n'okuyinza ne gutayinza na kuginyeenya: kubanga yazimbibwa bulungi. 42LUK006.049 But he that heareth, and doeth not, is like a man that without a foundation built an house upon the earth; against which the stream did beat vehemently, and immediately it fell; and the ruin of that house was great. %%% Naye oyo awulira n'atakola afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka n'atasima musingi; awo omugga ne gugikulukutirako lwa maanyi n'ewa amangu ago, n'okugwa kw'ennyumba eyo ne kuba kunene. 42LUK007.001 Now when he had ended all his sayings in the audience of the people, he entered into Capernaum. %%% Awo bwe yamala okwogerera ebigambo bye byonna mu bantu, n'ayingira e Kaperunawumu. 42LUK007.002 And a certain centurion's servant, who was dear unto him, was sick, and ready to die. %%% Awo waaliwo omwami w'ekitongole omuddu we gwe yali ayagala ennyo yali ng'alwadde ng'agenda kufa. 42LUK007.003 And when he heard of Jesus, he sent unto him the elders of the Jews, beseeching him that he would come and heal his servant. %%% N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu n'atuma bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we. 42LUK007.004 And when they came to Jesus, they besought him instantly, saying, That he was worthy for whom he should do this: %%% Nabo bwe bajja eri Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti Asaanidde ggwe okumukolera ekyo; 42LUK007.005 For he loveth our nation, and he hath built us a synagogue. %%% kubanga ayagala eggwanga lyaffe, n'ekkuŋŋaaniro ye yalituzimbira. 42LUK007.006 Then Jesus went with them. And when he was now not far from the house, the centurion sent friends to him, saying unto him, Lord, trouble not thyself: for I am not worthy that thou shouldest enter under my roof: %%% Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali nga tali wala n'ennyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange: 42LUK007.007 Wherefore neither thought I myself worthy to come unto thee: but say in a word, and my servant shall be healed. %%% era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona. 42LUK007.008 For I also am a man set under authority, having under me soldiers, and I say unto one, Go, and he goeth; and to another, Come, and he cometh; and to my servant, Do this, and he doeth it. %%% Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akola. 42LUK007.009 When Jesus heard these things, he marvelled at him, and turned him about, and said unto the people that followed him, I say unto you, I have not found so great faith, no, not in Israel. %%% Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri. 42LUK007.010 And they that were sent, returning to the house, found the servant whole that had been sick. %%% Awo abantu abaatumibwa bwe baakomawo mu nnyumba, ne basanga omuddu ng'awonye. 42LUK007.011 And it came to pass the day after, that he went into a city called Nain; and many of his disciples went with him, and much people. %%% Awo olwatuuka bwe waayitawo ebbanga ttono n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne bagenda naye. 42LUK007.012 Now when he came nigh to the gate of the city, behold, there was a dead man carried out, the only son of his mother, and she was a widow: and much people of the city was with her. %%% Awo bwe yasembera ku wankaaki w'ekibuga, laba, omulambo nga gufulumizibwa ebweru, gwa mwana nnyina gwe yazaala omu, ne nnyina oyo nga nnamwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye. 42LUK007.013 And when the Lord saw her, he had compassion on her, and said unto her, Weep not. %%% Awo Mukama waffe bwe yamulaba n'amusaasira, n'amugamba nti Tokaaba. 42LUK007.014 And he came and touched the bier: and they that bare him stood still. And he said, Young man, I say unto thee, Arise. %%% N'asembera n'akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti Omulenzi, nkugamba nti Golokoka. 42LUK007.015 And he that was dead sat up, and began to speak. And he delivered him to his mother. %%% Oyo eyali afudde n'agolokoka, n'atuula n'atanula okwogera. N'amuwa nnyina. 42LUK007.016 And there came a fear on all: and they glorified God, saying, That a great prophet is risen up among us; and, That God hath visited his people. %%% Obuti ne bubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be. 42LUK007.017 And this rumour of him went forth throughout all Judaea, and throughout all the region round about. %%% N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo. 42LUK007.018 And the disciples of John shewed him of all these things. %%% Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna. 42LUK007.019 And John calling unto him two of his disciples sent them to Jesus, saying, Art thou he that should come? or look we for another? %%% Yokaana n'ayita abayigirizwa be babiri n'abatuma eri Mukama waffe; ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala? 42LUK007.020 When the men were come unto him, they said, John Baptist hath sent us unto thee, saying, Art thou he that should come? or look we for another? %%% Awo abantu abo bwe baatuuka gy'ali, ne bagamba nti Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala? 42LUK007.021 And in that same hour he cured many of their infirmities and plagues, and of evil spirits; and unto many that were blind he gave sight. %%% Awo mu kiseera ekyo n'awonya bangi endwadde n'okubonaabona ne dayimooni, n'abazibe b'amaaso bangi n'abawa okulaba. 42LUK007.022 Then Jesus answering said unto them, Go your way, and tell John what things ye have seen and heard; how that the blind see, the lame walk, the lepers are cleansed, the deaf hear, the dead are raised, to the poor the gospel is preached. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b'amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukira, abaavu babuulirwa enjiri. 42LUK007.023 And blessed is he, whosoever shall not be offended in me. %%% Era alina omukisa oyo atalinneesittalako. 42LUK007.024 And when the messengers of John were departed, he began to speak unto the people concerning John, What went ye out into the wilderness for to see? A reed shaken with the wind? %%% Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atanula okwogera n'ebibiina ebya Yokaana nti Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo? 42LUK007.025 But what went ye out for to see? A man clothed in soft raiment? Behold, they which are gorgeously apparelled, and live delicately, are in kings' courts. %%% Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba, abambala engoye ez'obuyonjo, abalya emmere ennungi, baba mu mpya za bakabaka. 42LUK007.026 But what went ye out for to see? A prophet? Yea, I say unto you, and much more than a prophet. %%% Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi. 42LUK007.027 This is he, of whom it is written, Behold, I send my messenger before thy face, which shall prepare thy way before thee. %%% Oyo ye yawandiikibwako nti Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo gy'ogenda. 42LUK007.028 For I say unto you, Among those that are born of women there is not a greater prophet than John the Baptist: but he that is least in the kingdom of God is greater than he. %%% Mbagamba nti Mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga ye. 42LUK007.029 And all the people that heard him, and the publicans, justified God, being baptized with the baptism of John. %%% N'abantu bonna bwe baawulira n'abawooza ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana. 42LUK007.030 But the Pharisees and lawyers rejected the counsel of God against themselves, being not baptized of him. %%% Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaanira okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa ye. 42LUK007.031 And the Lord said, Whereunto then shall I liken the men of this generation? and to what are they like? %%% Kale abantu b'emirembe gino naabafaananya ki? era balinga ki? 42LUK007.032 They are like unto children sitting in the marketplace, and calling one to another, and saying, We have piped unto you, and ye have not danced; we have mourned to you, and ye have not wept. %%% Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; abagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga. 42LUK007.033 For John the Baptist came neither eating bread nor drinking wine; and ye say, He hath a devil. %%% Kubanga Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere so nga tanywa mwenge; ne mugamba nti Aliko dayimooni. 42LUK007.034 The Son of man is come eating and drinking; and ye say, Behold a gluttonous man, and a winebibber, a friend of publicans and sinners! %%% Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi. 42LUK007.035 But wisdom is justified of all her children. %%% Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonna. 42LUK007.036 And one of the Pharisees desired him that he would eat with him. And he went into the Pharisee's house, and sat down to meat. %%% Awo Omufalisaayo omu n'amuyita okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere. 42LUK007.037 And, behold, a woman in the city, which was a sinner, when she knew that Jesus sat at meat in the Pharisee's house, brought an alabaster box of ointment, %%% Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya ng'atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu, 42LUK007.038 And stood at his feet behind him weeping, and began to wash his feet with tears, and did wipe them with the hairs of her head, and kissed his feet, and anointed them with the ointment. %%% n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atanula okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisangula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago. 42LUK007.039 Now when the Pharisee which had bidden him saw it, he spake within himself, saying, This man, if he were a prophet, would have known who and what manner of woman this is that toucheth him: for she is a sinner. %%% Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi. 42LUK007.040 And Jesus answering said unto him, Simon, I have somewhat to say unto thee. And he saith, Master, say on. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira. N'agamba nti Omuyigiriza, yogera. 42LUK007.041 There was a certain creditor which had two debtors: the one owed five hundred pence, and the other fifty. %%% Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano, n'omulala ataano. 42LUK007.042 And when they had nothing to pay, he frankly forgave them both. Tell me therefore, which of them will love him most? %%% Awo bwe baali nga tebalina kya kumusasula n'abasonyiwa bombi. Kale ku abo alisinga okumwagala aluwa? 42LUK007.043 Simon answered and said, I suppose that he, to whom he forgave most. And he said unto him, Thou hast rightly judged. %%% Simooni n'addamu n'agamba nti Ndowooza oyo gwe yasinga okusonyiwa ennyingi: N'amugamba nti Osaze bulungi. 42LUK007.044 And he turned to the woman, and said unto Simon, Seest thou this woman? I entered into thine house, thou gavest me no water for my feet: but she hath washed my feet with tears, and wiped them with the hairs of her head. %%% N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnynmba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze. 42LUK007.045 Thou gavest me no kiss: but this woman since the time I came in hath not ceased to kiss my feet. %%% Tonnywegedde ggwe: naye ono we nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange. 42LUK007.046 My head with oil thou didst not anoint: but this woman hath anointed my feet with ointment. %%% Tonsiize mafuta ku mutwe gwange: naye ono ansiize amafuta ag'omugavu ku bigere byange. 42LUK007.047 Wherefore I say unto thee, Her sins, which are many, are forgiven; for she loved much: but to whom little is forgiven, the same loveth little. %%% Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono. 42LUK007.048 And he said unto her, Thy sins are forgiven. %%% N'amugamba nti Osonyiyiddwa ebibi byo. 42LUK007.049 And they that sat at meat with him began to say within themselves, Who is this that forgiveth sins also? %%% Awo abaali batudde ku mmere naye ne batanula okwogera bokka na bokka nti Ono y'ani asonyiwa n'ebibi? 42LUK007.050 And he said to the woman, Thy faith hath saved thee; go in peace. %%% N'agamba omukazi nti Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe. 42LUK008.001 And it came to pass afterward, that he went throughout every city and village, preaching and shewing the glad tidings of the kingdom of God: and the twelve were with him, %%% Awo olwatuuka oluvannyumako katono n'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, bali ekkumi n'ababiri nga bali naye, 42LUK008.002 And certain women, which had been healed of evil spirits and infirmities, Mary called Magdalene, out of whom went seven devils, %%% n'abakazi abaawonyezebwako dayimooni n'endwadde, Malyamu eyayitibwa Magudaleene, eyavaako dayimooni omusanvu, 42LUK008.003 And Joanna the wife of Chuza Herod's steward, and Susanna, and many others, which ministered unto him of their substance. %%% ne Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abalala bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina. 42LUK008.004 And when much people were gathered together, and were come to him out of every city, he spake by a parable: %%% Awo ekibiina ekinene bwe kyakuŋŋaana n'abaavanga mu buli kibuga bwe bajja w'ali, n'agera olugero nti 42LUK008.005 A sower went out to sow his seed: and as he sowed, some fell by the way side; and it was trodden down, and the fowls of the air devoured it. %%% Omusizi yafuluma okusiga ensigo ze; bwe yali ng'asiga, endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo; ne zirinnyirirwa, ennyonyi ez'o mu bbanga ne zizirya. 42LUK008.006 And some fell upon a rock; and as soon as it was sprung up, it withered away, because it lacked moisture. %%% Endala ne zigwa ku lwazi; bwe zaamala okumera ne ziwotookerera; olw'obutaba na mazzi. 42LUK008.007 And some fell among thorns; and the thorns sprang up with it, and choked it. %%% Endala ne zigwa wakati mu maggwa; amaggwa ne gamerera wamu nazo ne gazizisa. 42LUK008.008 And other fell on good ground, and sprang up, and bare fruit an hundredfold. And when he had said these things, he cried, He that hath ears to hear, let him hear. %%% Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera, ne zibalako emmere buli mpeke kikumi. Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ayogerera waggulu nti Alina amatu ag'okuwulira awulire. 42LUK008.009 And his disciples asked him, saying, What might this parable be? %%% Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti Olugero olwo kiki? 42LUK008.010 And he said, Unto you it is given to know the mysteries of the kingdom of God: but to others in parables; that seeing they might not see, and hearing they might not understand. %%% N'agamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abalala mu ngero; era bwe balaba baleme okulaba, era bwe bawulira baleme okutegeera. 42LUK008.011 Now the parable is this: The seed is the word of God. %%% Era olugero lwe luno: Ensigo kye kigambo kya Katonda. 42LUK008.012 Those by the way side are they that hear; then cometh the devil, and taketh away the word out of their hearts, lest they should believe and be saved. %%% Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa. 42LUK008.013 They on the rock are they, which, when they hear, receive the word with joy; and these have no root, which for a while believe, and in time of temptation fall away. %%% N'ab'oku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mizzi, bakikkirizaako kaseera, era mu biro eby'okukemebwa baterebuka. 42LUK008.014 And that which fell among thorns are they, which, when they have heard, go forth, and are choked with cares and riches and pleasures of this life, and bring no fruit to perfection. %%% N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza kukuza mmere. 42LUK008.015 But that on the good ground are they, which in an honest and good heart, having heard the word, keep it, and bring forth fruit with patience. %%% N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala emmere n'okugumiikiza. 42LUK008.016 No man, when he hath lighted a candle, covereth it with a vessel, or putteth it under a bed; but setteth it on a candlestick, that they which enter in may see the light. %%% Era tewali akoleeza ttabaaza n'agisaanikira mu kibbo, oba kugissa wansi w'ekiriri; naye agissa ku kikondo abayingiramu balabe bw'eyaka. 42LUK008.017 For nothing is secret, that shall not be made manifest; neither any thing hid, that shall not be known and come abroad. %%% Kubanga tewali kigambo ekyakisibwa ekitalirabisibwa; newakubadde ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kirabika mu lwatu. 42LUK008.018 Take heed therefore how ye hear: for whosoever hath, to him shall be given; and whosoever hath not, from him shall be taken even that which he seemeth to have. %%% Kale mwekuumenga bwe muwulira; kubanga buli alina, aliweebwa; era buli atalina n'ekyo ky'alowooza nti ali nakyo kirimuggibwako. 42LUK008.019 Then came to him his mother and his brethren, and could not come at him for the press. %%% Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali, ne batayinza kumutuukako olw'ekibiina. 42LUK008.020 And it was told him by certain which said, Thy mother and thy brethren stand without, desiring to see thee. %%% N'abuulirwa nti Nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru baagala okukulaba. 42LUK008.021 And he answered and said unto them, My mother and my brethren are these which hear the word of God, and do it. %%% Naye n'addamu n'abagamba nti Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikola. 42LUK008.022 Now it came to pass on a certain day, that he went into a ship with his disciples: and he said unto them, Let us go over unto the other side of the lake. And they launched forth. %%% Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo n'asaabala mu lyato ye n'abayigirizwa be; n'abagamba nti Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja; ne bagenda. 42LUK008.023 But as they sailed he fell asleep: and there came down a storm of wind on the lake; and they were filled with water, and were in jeopardy. %%% Awo bwe baali nga baseeyeeya ne yeebaka otulo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nnyanja; amazzi ne gaba nga gaagala okujjula, ne baba mu kabi. 42LUK008.024 And they came to him, and awoke him, saying, Master, master, we perish. Then he arose, and rebuked the wind and the raging of the water: and they ceased, and there was a calm. %%% Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti Mukama waffe, Mukama waffe, tufa. N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, n'eba nteefu. 42LUK008.025 And he said unto them, Where is your faith? And they being afraid wondered, saying one to another, What manner of man is this! for he commandeth even the winds and water, and they obey him. %%% N'abagamba nti Okukkiriza kwamme kuli luuyi wa? Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira? 42LUK008.026 And they arrived at the country of the Gadarenes, which is over against Galilee. %%% Awo ne bagoba ku nsi y'Abagerasene eyolekera e Ggaliraaya. 42LUK008.027 And when he went forth to land, there met him out of the city a certain man, which had devils long time, and ware no clothes, neither abode in any house, but in the tombs. %%% Awo bwe yavaamu n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni, nga yaakamala ennaku nnyingi nga tayambala lugoye ne mu nnyumba nga tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana. 42LUK008.028 When he saw Jesus, he cried out, and fell down before him, and with a loud voice said, What have I to do with thee, Jesus, thou Son of God most high? I beseech thee, torment me not. %%% Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza. 42LUK008.029 (For he had commanded the unclean spirit to come out of the man. For oftentimes it had caught him: and he was kept bound with chains and in fetters; and he brake the bands, and was driven of the devil into the wilderness.) %%% Kubanga yalagira dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga Yali Yaakamala ebiro bingi nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu. 42LUK008.030 And Jesus asked him, saying, What is thy name? And he said, Legion: because many devils were entered into him. %%% Yesu n'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'agamba nti Liigyoni; kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu. 42LUK008.031 And they besought him that he would not command them to go out into the deep. %%% Ne bamwegayirira aleme okubalagira okuvaako okugenda mu bunnya. 42LUK008.032 And there was there an herd of many swine feeding on the mountain: and they besought him that he would suffer them to enter into them. And he suffered them. %%% Awo waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga zirya ku lusozi, ne bamwegayirira abalagire baziyingiremu. N'abalagira. 42LUK008.033 Then went the devils out of the man, and entered into the swine: and the herd ran violently down a steep place into the lake, and were choked. %%% Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi: eggana ne lifubutukira mu bbanga ne zigwa mu nnyanja ne zifa amazzi. 42LUK008.034 When they that fed them saw what was done, they fled, and went and told it in the city and in the country. %%% Awo abasumba bwe baalaba ebibaddewo ne badduka ne babyogera mu kibuga ne mu byalo. 42LUK008.035 Then they went out to see what was done; and came to Jesus, and found the man, out of whom the devils were departed, sitting at the feet of Jesus, clothed, and in his right mind: and they were afraid. %%% Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya: 42LUK008.036 They also which saw it told them by what means he that was possessed of the devils was healed. %%% N'abo abaalaba ne babuulira bwe yakoleddwa oyo eyali akwatiddwa badayimooni. 42LUK008.037 Then the whole multitude of the country of the Gadarenes round about besought him to depart from them; for they were taken with great fear: and he went up into the ship, and returned back again. %%% N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gye bali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo. 42LUK008.038 Now the man out of whom the devils were departed besought him that he might be with him: but Jesus sent him away, saying, %%% Naye omuntu eyavaako badayimooni n'amwegayirira abeere naye; naye n'amusiibula ng'agamba nti 42LUK008.039 Return to thine own house, and shew how great things God hath done unto thee. And he went his way, and published throughout the whole city how great things Jesus had done unto him. %%% Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu. N'agenda ng'abuulira ekibuga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. 42LUK008.040 And it came to pass, that, when Jesus was returned, the people gladly received him: for they were all waiting for him. %%% Awo Yesu bwe yakomawo, ekibiina ne kimwaniriza n'essanyu; kubanga bonna baali nga bamulindiridde. 42LUK008.041 And, behold, there came a man named Jairus, and he was a ruler of the synagogue: and he fell down at Jesus' feet, and besought him that he would come into his house: %%% Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'agwa awali ebigere bya Yesu n'amwegayirira okuyingira mu nnyumba ye: 42LUK008.042 For he had one only daughter, about twelve years of age, and she lay a dying. But as he went the people thronged him. %%% kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, era oyo yali ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza. 42LUK008.043 And a woman having an issue of blood twelve years, which had spent all her living upon physicians, neither could be healed of any, %%% N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, eyawanga abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna, 42LUK008.044 Came behind him, and touched the border of his garment: and immediately her issue of blood stanched. %%% oyo n'amufuluma emabega n'akoma ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangu ago ekikulukuto kye ne kikalira. 42LUK008.045 And Jesus said, Who touched me? When all denied, Peter and they that were with him said, Master, the multitude throng thee and press thee, and sayest thou, Who touched me? %%% Yesu n'agamba nti Ani ankomyeko? Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza. 42LUK008.046 And Jesus said, Somebody hath touched me: for I perceive that virtue is gone out of me. %%% Naye Yesu n'agamba nti Omuntu ankomyeko: kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvuddemu. 42LUK008.047 And when the woman saw that she was not hid, she came trembling, and falling down before him, she declared unto him before all the people for what cause she had touched him, and how she was healed immediately. %%% Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'amufukaamirira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, ne bw'awonye amangu ago. 42LUK008.048 And he said unto her, Daughter, be of good comfort: thy faith hath made thee whole; go in peace. %%% N'amugamba nti Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe. 42LUK008.049 While he yet spake, there cometh one from the ruler of the synagogue's house, saying to him, Thy daughter is dead; trouble not the Master. %%% Awo yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro ng'agamba nti Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza. 42LUK008.050 But when Jesus heard it, he answered him, saying, Fear not: believe only, and she shall be made whole. %%% Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu. 42LUK008.051 And when he came into the house, he suffered no man to go in, save Peter, and James, and John, and the father and the mother of the maiden. %%% Awo bwe yatuuka ku nnyumba n'ataganya muntu mulala kuyingira naye wabula Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne kitaawe w'omuwala ne nnyina. 42LUK008.052 And all wept, and bewailed her: but he said, Weep not; she is not dead, but sleepeth. %%% Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; ye n'agamba nti Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo. 42LUK008.053 And they laughed him to scorn, knowing that she was dead. %%% Ne bamusekerera nnyo, kubanga baamanya ng'afudde. 42LUK008.054 And he put them all out, and took her by the hand, and called, saying, Maid, arise. %%% Ye n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Omuwala, golokoka. 42LUK008.055 And her spirit came again, and she arose straightway: and he commanded to give her meat. %%% Omwoyo gwe ne gukomawo n'ayimirira amangu ago. N'alagira okumuwa eky'okulya. 42LUK008.056 And her parents were astonished: but he charged them that they should tell no man what was done. %%% Abazadde be ne bawuniikirira; naye ye n'abakuutira baleme kubuulirako muntu ebibaddewo. 42LUK009.001 Then he called his twelve disciples together, and gave them power and authority over all devils, and to cure diseases. %%% N'abayitira wamu abayigirizwa be ekkumi n'ababiri n'abawa amaanyi n'obuyinza ku badayimooni bonna n'okuwonya endwadde. 42LUK009.002 And he sent them to preach the kingdom of God, and to heal the sick. %%% N'abatuma okubuulira obwakabaka bwa Katonda, n'okuwonya abalwadde. 42LUK009.003 And he said unto them, Take nothing for your journey, neither staves, nor scrip, neither bread, neither money; neither have two coats apiece. %%% N'abagamba nti Temutwala kintu kya mu kkubo, newakubadde omuggo, newakubadde olukoba, newakubadde emmere, newakubadde effeeza; so temuba na kkanzu bbiri. 42LUK009.004 And whatsoever house ye enter into, there abide, and thence depart. %%% Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga. 42LUK009.005 And whosoever will not receive you, when ye go out of that city, shake off the very dust from your feet for a testimony against them. %%% Era bonna abataabakkirizenga, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byammwe mugikunkumulenga ebe omujulirwa eri bo. 42LUK009.006 And they departed, and went through the towns, preaching the gospel, and healing every where. %%% Awo ne bagenda ne beetooloola mu bibuga byonna nga babuulira enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo. 42LUK009.007 Now Herod the tetrarch heard of all that was done by him: and he was perplexed, because that it was said of some, that John was risen from the dead; %%% Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonna ebyakolebwa; n'abuusabuusa nnyo kubanga abantu baagamba nti Yokaana azuukidde mu bafu; 42LUK009.008 And of some, that Elias had appeared; and of others, that one of the old prophets was risen again. %%% abalala nti Eriya alabise; n'abalala nti Bannabbi ab'edda omu ku bo azuukidde. 42LUK009.009 And Herod said, John have I beheaded: but who is this, of whom I hear such things? And he desired to see him. %%% Kerode n'agamba nti Yokaana nze nnamutemako omutwe: naye oyo ani gwe mpulirako ebigambo ebyenkana awo? N'ayagala okumulaba. 42LUK009.010 And the apostles, when they were returned, told him all that they had done. And he took them, and went aside privately into a desert place belonging to the city called Bethsaida. %%% Awo abatume bwe baamala okukomawo, ne bamunnyonnyola byonna bye baakola. N'abatwala ne yeeyawula n'agenda nabo kyama mu kibuga ekiyitibwa Besusayida. 42LUK009.011 And the people, when they knew it, followed him: and he received them, and spake unto them of the kingdom of God, and healed them that had need of healing. %%% Naye ebibiina bwe baategeera ne bamugoberera; n'abaaniriza, n'ayogera nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya. 42LUK009.012 And when the day began to wear away, then came the twelve, and said unto him, Send the multitude away, that they may go into the towns and country round about, and lodge, and get victuals: for we are here in a desert place. %%% Awo enjuba yali egolooba; abo ekkumi n'ababiri ne bajja w'ali ne bamugamba nti Siibula ekibiina bagende mu mbuga ne mu byalo eby'okumpi basule, banoonye eby'okulya; kubanga wano tuli mu ttale jjereere. 42LUK009.013 But he said unto them, Give ye them to eat. And they said, We have no more but five loaves and two fishes; except we should go and buy meat for all this people. %%% N'abagamba nti Mmwe mubawe eby'okulya. Ne bagamba nti Tetulina kintu wabula emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri; kyokka tugende tubagulire eby'okulya abantu bano bonna. 42LUK009.014 For they were about five thousand men. And he said to his disciples, Make them sit down by fifties in a company. %%% Kubanga baali abasajja ng'enkumi ttaano. N'agamba abayigirizwa be nti Mubatuuze nnyiriri ng'ataano ataano. 42LUK009.015 And they did so, and made them all sit down. %%% Ne bakola bwe batyo, ne babatuuza bonna. 42LUK009.016 Then he took the five loaves and the two fishes, and looking up to heaven, he blessed them, and brake, and gave to the disciples to set before the multitude. %%% N'addira emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso mu ggulu, n'abyebaza n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubissa mu maaso g'ekibiina. 42LUK009.017 And they did eat, and were all filled: and there was taken up of fragments that remained to them twelve baskets. %%% Ne balya ne bakkuta bonna; ne bulondebwa obukunkumuka bwe baalemwa, ebibbo kkumi na bibiri. 42LUK009.018 And it came to pass, as he was alone praying, his disciples were with him: and he asked them, saying, Whom say the people that I am? %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'asaba yekka, abayigirizwa be baali naye wamu. N'ababuuza ng'agamba nti Ebibiina bimpita ani? 42LUK009.019 They answering said, John the Baptist; but some say, Elias; and others say, that one of the old prophets is risen again. %%% Ne baddamu ne bagamba nti Yokaana Omubatiza; naye abalala nti Eriya; n'abalala nti Ku bannabbi ab'edda omu ku abo azuukidde. 42LUK009.020 He said unto them, But whom say ye that I am? Peter answering said, The Christ of God. %%% N'abagamba nti Naye mmwe mumpita ani? Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo wa Katonda. 42LUK009.021 And he straitly charged them, and commanded them to tell no man that thing; %%% Naye n'abakuutira n'abalagira baleme okubuulirako omuntu ekigambo ekyo; 42LUK009.022 Saying, The Son of man must suffer many things, and be rejected of the elders and chief priests and scribes, and be slain, and be raised the third day. %%% ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, era ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa. 42LUK009.023 And he said to them all, If any man will come after me, let him deny himself, and take up his cross daily, and follow me. %%% N'abagamba bonna nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusalaba gwe buli lunaku, angoberere. 42LUK009.024 For whosoever will save his life shall lose it: but whosoever will lose his life for my sake, the same shall save it. %%% Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe ku lwange oyo alibulokola. 42LUK009.025 For what is a man advantaged, if he gain the whole world, and lose himself, or be cast away? %%% Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonna nga yeebuzizza oba nga yeetunze? 42LUK009.026 For whosoever shall be ashamed of me and of my words, of him shall the Son of man be ashamed, when he shall come in his own glory, and in his Father's, and of the holy angels. %%% Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi, lw'alijjira mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu. 42LUK009.027 But I tell you of a truth, there be some standing here, which shall not taste of death, till they see the kingdom of God. %%% Naye mbagamba mazima nti Waliwo abayimiridde wano abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda. 42LUK009.028 And it came to pass about an eight days after these sayings, he took Peter and John and James, and went up into a mountain to pray. %%% Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebigambo ebyo nga wayiseewo ennaku munaana, n'atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusaba. 42LUK009.029 And as he prayed, the fashion of his countenance was altered, and his raiment was white and glistering. %%% Awo bwe yali ng'asaba, ekifaananyi ky'amaaso ge ne kiba kirala, n'ekyambalo kye ne kiba kyeru nga kimasamasa. 42LUK009.030 And, behold, there talked with him two men, which were Moses and Elias: %%% Kale, laba, abantu babiri ne boogera naye, abo baali Musa ne Eriya; 42LUK009.031 Who appeared in glory, and spake of his decease which he should accomplish at Jerusalem. %%% abaalabika nga balina ekitiibwa, ne boogera ku kufa kwe kw'agenda okutuukiririza mu Yerusaalemi. 42LUK009.032 But Peter and they that were with him were heavy with sleep: and when they were awake, they saw his glory, and the two men that stood with him. %%% Awo Peetero ne be yali nabo baali bakwatiddwa otulo: naye bwe baatunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayimiridde w'ali. 42LUK009.033 And it came to pass, as they departed from him, Peter said unto Jesus, Master, it is good for us to be here: and let us make three tabernacles; one for thee, and one for Moses, and one for Elias: not knowing what he said. %%% Awo olwatuuka bwe baali bagenda okwawukana naye, Peetero n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; tukole ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa, emu ya Eriya; nga tamanyi ky'ayogera. 42LUK009.034 While he thus spake, there came a cloud, and overshadowed them: and they feared as they entered into the cloud. %%% Awo yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibasiikiriza: bwe baayingira mu kire ne batya. 42LUK009.035 And there came a voice out of the cloud, saying, This is my beloved Son: hear him. %%% Eddoboozi ne lifuluma mu kire ne ligamba nti Oyo ye Mwana wange gwe nneeroboza: mumuwulire ye. 42LUK009.036 And when the voice was past, Jesus was found alone. And they kept it close, and told no man in those days any of those things which they had seen. %%% N'eddoboozi eryo bwe lyajja, Yesu n'alabika yekka. Nabo ne basirika busirisi, ennaku ezo ne batabuulirako muntu kigambo na kimu ku ebyo bye baalaba. 42LUK009.037 And it came to pass, that on the next day, when they were come down from the hill, much people met him. %%% Awo olwatuuka ku lunaku olw'okubiri bwe baava ku lusozi, ekibiina kinene ne kimusisinkana. 42LUK009.038 And, behold, a man of the company cried out, saying, Master, I beseech thee, look upon my son: for he is mine only child. %%% Era, laba, omuntu ow'omu kibiina n'ayogerera waggulu n'agamba nti Omuyigiriza, nkwegayirira okulaba ku mwana wange, kubanga nnamuzaala omu: 42LUK009.039 And, lo, a spirit taketh him, and he suddenly crieth out; and it teareth him that he foameth again, and bruising him hardly departeth from him. %%% era, laba, dayimooni amukwata n'akaaba amangu ago; n'amutaagula n'okubimba n'abimba ejjovu, era amuvaako lwa mpaka, nga amumenyeemenye nnyo. 42LUK009.040 And I besought thy disciples to cast him out; and they could not. %%% Nange nneegayiridde abayigirizwa bo okumugobako; ne batayinza. 42LUK009.041 And Jesus answering said, O faithless and perverse generation, how long shall I be with you, and suffer you? Bring thy son hither. %%% Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza era egyakyama, ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? leeta wano omwana wo. 42LUK009.042 And as he was yet a coming, the devil threw him down, and tare him. And Jesus rebuked the unclean spirit, and healed the child, and delivered him again to his father. %%% Awo yali ng'akyajja, dayimooni n'amusuula n'amutaagula nnyo. Naye Yesu n'aboggolera dayimooni n'awonya omulenzi n'amuzza eri kitaawe. 42LUK009.043 And they were all amazed at the mighty power of God. But while they wondered every one at all things which Jesus did, he said unto his disciples, %%% Bonna ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonna bwe baali nga beewuunya byonna bye yakola, n'agamba abayigirizwa be nti 42LUK009.044 Let these sayings sink down into your ears: for the Son of man shall be delivered into the hands of men. %%% Ebigambo ebyo mubisse mu matu gammwe: kubanga Omwana w'omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'abantu. 42LUK009.045 But they understood not this saying, and it was hid from them, that they perceived it not: and they feared to ask him of that saying. %%% Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, era kyali kibakwekeddwa baleme okukitegeera : ne batya okumubuuza ekigambo ekyo bwe kiri. 42LUK009.046 Then there arose a reasoning among them, which of them should be greatest. %%% Awo ne wabaawo okuwakana mu bo aliba omukulu mu bo bw'ali. 42LUK009.047 And Jesus, perceiving the thought of their heart, took a child, and set him by him, %%% Naye Yesu bwe yalaba okuwakana mu mitima gyabwe, n'atwala omwana omuto, n'amussa ku lusegere lwe, 42LUK009.048 And said unto them, Whosoever shall receive this child in my name receiveth me: and whosoever shall receive me receiveth him that sent me: for he that is least among you all, the same shall be great. %%% n'abagamba nti Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu. 42LUK009.049 And John answered and said, Master, we saw one casting out devils in thy name; and we forbad him, because he followeth not with us. %%% Yokaana n'addamu n'agamba nti Mukama waffe, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo: ne tumugaana, kubanga tayita naffe. 42LUK009.050 And Jesus said unto him, Forbid him not: for he that is not against us is for us. %%% Naye Yesu n'amugamba nti Temumugaana; kubanga atali mulabe wammwe, ali ku lwammwe. 42LUK009.051 And it came to pass, when the time was come that he should be received up, he stedfastly set his face to go to Jerusalem, %%% Awo olwatuuka ennaku ze ez'okutwalibwa waggulu bwe zaali zinaatera okutuuka, n'asimbira ddala amaaso ge okugenda e Yerusaalemi, 42LUK009.052 And sent messengers before his face: and they went, and entered into a village of the Samaritans, to make ready for him. %%% n'atuma ababaka mu maaso ge; ne bagenda ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera. 42LUK009.053 And they did not receive him, because his face was as though he would go to Jerusalem. %%% Ne batamusembeza kubanga amaaso ge gaali galaze kugenda Yerusaalemi. 42LUK009.054 And when his disciples James and John saw this, they said, Lord, wilt thou that we command fire to come down from heaven, and consume them, even as Elias did? %%% Abayigirwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti Mukama waffe, oyagala ndagire omuliro guve mu ggulu okubazikiriza, nga Eriya bwe yakola? 42LUK009.055 But he turned, and rebuked them, and said, Ye know not what manner of spirit ye are of. %%% Naye n'akyuka n'abanenya n'ayogera nti Temumanyi omwoyo bwe guli gwe mulina. Kubanga Omwana w'omuntu teyajja kuzikiriza bulamu bwa bantu, wabula okubulokola. 42LUK009.056 For the Son of man is not come to destroy men's lives, but to save them. And they went to another village. %%% Awo ne bagenda mu mbuga endala. 42LUK009.057 And it came to pass, that, as they went in the way, a certain man said unto him, Lord, I will follow thee whithersoever thou goest. %%% Awo bwe baali nga bagenda mu kkubo, omuntu n'amugamba nti Nnaakugobereranga w'onoogendanga wonna. 42LUK009.058 And Jesus said unto him, Foxes have holes, and birds of the air have nests; but the Son of man hath not where to lay his head. %%% Yesu n'amugamba nti Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe. 42LUK009.059 And he said unto another, Follow me. But he said, Lord, suffer me first to go and bury my father. %%% N'agamba omulala nti Ngoberera. Naye ye n'agamba nti Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange. 42LUK009.060 Jesus said unto him, Let the dead bury their dead: but go thou and preach the kingdom of God. %%% Naye n'amugamba nti Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda obuulire obwakabaka bwa Katonda. 42LUK009.061 And another also said, Lord, I will follow thee; but let me first go bid them farewell, which are at home at my house. %%% N'omulala n'agamba nti Nnaakugobereranga, Mukama wange; naye sooka ondeke mmale okusiibula ab'omu nnyumba yange. 42LUK009.062 And Jesus said unto him, No man, having put his hand to the plough, and looking back, is fit for the kingdom of God. %%% Naye Yesu n'amugamba nti Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula ennyuma asaanira obwakabaka bwa Katonda. 42LUK010.001 After these things the LORD appointed other seventy also, and sent them two and two before his face into every city and place, whither he himself would come. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu, n'abatuma kinnababirye mu maaso ge okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye. 42LUK010.002 Therefore said he unto them, The harvest truly is great, but the labourers are few: pray ye therefore the Lord of the harvest, that he would send forth labourers into his harvest. %%% N'abagamba nti Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe. 42LUK010.003 Go your ways: behold, I send you forth as lambs among wolves. %%% Mugende: laba, mbatuma mmwe ng'abaana b'endiga wakati mu misege. 42LUK010.004 Carry neither purse, nor scrip, nor shoes: and salute no man by the way. %%% Temutwala nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto; so temulamusa muntu mu kkubo. 42LUK010.005 And into whatsoever house ye enter, first say, Peace be to this house. %%% Na buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga okugamba nti Emirembe gibe mu nnyumba muno. 42LUK010.006 And if the son of peace be there, your peace shall rest upon it: if not, it shall turn to you again. %%% Oba nga mulimu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye; naye oba nga si bwe kityo, ate ginaddanga gye muli. 42LUK010.007 And in the same house remain, eating and drinking such things as they give: for the labourer is worthy of his hire. Go not from house to house. %%% Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala. 42LUK010.008 And into whatsoever city ye enter, and they receive you, eat such things as are set before you: %%% Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasembeza, mulyanga buli bye bassanga mu maaso gammwe; 42LUK010.009 And heal the sick that are therein, and say unto them, The kingdom of God is come nigh unto you. %%% muwonyenga abalwadde abalimu, mubagambenga nti Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi. 42LUK010.010 But into whatsoever city ye enter, and they receive you not, go your ways out into the streets of the same, and say, %%% Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasembeza, mufulumanga mu nguudo zaakyo, mugambanga nti 42LUK010.011 Even the very dust of your city, which cleaveth on us, we do wipe off against you: notwithstanding be ye sure of this, that the kingdom of God is come nigh unto you. %%% N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe, etusaabaanye mu bigere, tugibakunkumulira mmwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde. 42LUK010.012 But I say unto you, that it shall be more tolerable in that day for Sodom, than for that city. %%% Mbagamba mmwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku luli okukira ekibuga ekyo. 42LUK010.013 Woe unto thee, Chorazin! woe unto thee, Bethsaida! for if the mighty works had been done in Tyre and Sidon, which have been done in you, they had a great while ago repented, sitting in sackcloth and ashes. %%% Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu. 42LUK010.014 But it shall be more tolerable for Tyre and Sidon at the judgment, than for you. %%% Naye Ttuulo ne Sidoni biriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira mmwe. 42LUK010.015 And thou, Capernaum, which art exalted to heaven, shalt be thrust down to hell. %%% Naawe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? olissibwa okutuuka e Magombe. 42LUK010.016 He that heareth you heareth me; and he that despiseth you despiseth me; and he that despiseth me despiseth him that sent me. %%% Abawulira mmwe, ng'awulira nze; era anyooma mmwe ng'anyooma nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantuma. 42LUK010.017 And the seventy returned again with joy, saying, Lord, even the devils are subject unto us through thy name. %%% Awo abo ensanvu ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo. 42LUK010.018 And he said unto them, I beheld Satan as lightning fall from heaven. %%% N'abagamba nti Nnalaba Setaani ng'avudde mu ggulu okugwa ng'okumyansa. 42LUK010.019 Behold, I give unto you power to tread on serpents and scorpions, and over all the power of the enemy: and nothing shall by any means hurt you. %%% Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono 42LUK010.020 Notwithstanding in this rejoice not, that the spirits are subject unto you; but rather rejoice, because your names are written in heaven. %%% Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu. 42LUK010.021 In that hour Jesus rejoiced in spirit, and said, I thank thee, O Father, Lord of heaven and earth, that thou hast hid these things from the wise and prudent, and hast revealed them unto babes: even so, Father; for so it seemed good in thy sight. %%% Awo mu ssaawa eyo n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakabakaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go. 42LUK010.022 All things are delivered to me of my Father: and no man knoweth who the Son is, but the Father; and who the Father is, but the Son, and he to whom the Son will reveal him. %%% Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali, wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira. 42LUK010.023 And he turned him unto his disciples, and said privately, Blessed are the eyes which see the things that ye see: %%% N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba: 42LUK010.024 For I tell you, that many prophets and kings have desired to see those things which ye see, and have not seen them; and to hear those things which ye hear, and have not heard them. %%% kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira. 42LUK010.025 And, behold, a certain lawyer stood up, and tempted him, saying, Master, what shall I do to inherit eternal life? %%% Kale, laba, omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema ng'agamba nti Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo? 42LUK010.026 He said unto him, What is written in the law? how readest thou? %%% N'amugamba nti Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya? 42LUK010.027 And he answering said, Thou shalt love the Lord thy God with all thy heart, and with all thy soul, and with all thy strength, and with all thy mind; and thy neighbour as thyself. %%% N'addamu n'agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka. 42LUK010.028 And he said unto him, Thou hast answered right: this do, and thou shalt live. %%% N'amugamba nti Ozzeemu bulungi; kola bw'otyo, onoobanga n'obulamu. 42LUK010.029 But he, willing to justify himself, said unto Jesus, And who is my neighbour? %%% Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti Muliraanwa wange ye ani? 42LUK010.030 And Jesus answering said, A certain man went down from Jerusalem to Jericho, and fell among thieves, which stripped him of his raiment, and wounded him, and departed, leaving him half dead. %%% Yesu n'addamu n'agamba nti Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng'abulako katono okufa. 42LUK010.031 And by chance there came down a certain priest that way: and when he saw him, he passed by on the other side. %%% Awo kabona yali ng'aserengetera inu kkubo eryo nga tamanyiridde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo. 42LUK010.032 And likewise a Levite, when he was at the place, came and looked on him, and passed by on the other side. %%% N'Omuleevi bw'atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, n'amwebalama n'ayitawo. 42LUK010.033 But a certain Samaritan, as he journeyed, came where he was: and when he saw him, he had compassion on him, %%% Naye Omusamaliya bwe yali ng'atambula, n'ajja w'ali: awo bwe yamulaba n'amukwatirwa ekisa, 42LUK010.034 And went to him, and bound up his wounds, pouring in oil and wine, and set him on his own beast, and brought him to an inn, and took care of him. %%% n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'afukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi, n'amujjanjaba. 42LUK010.035 And on the morrow when he departed, he took out two pence, and gave them to the host, and said unto him, Take care of him; and whatsoever thou spendest more, when I come again, I will repay thee. %%% Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo, bwe ndikomawo ndikusasula. 42LUK010.036 Which now of these three, thinkest thou, was neighbour unto him that fell among the thieves? %%% Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w'oyo eyagwa mu batemu? 42LUK010.037 And he said, He that shewed mercy on him. Then said Jesus unto him, Go, and do thou likewise. %%% N'agamba nti oli eyamukolera eby'ekisa. Yesu n'amugamba nti Naawe genda okole bw'otyo. 42LUK010.038 Now it came to pass, as they went, that he entered into a certain village: and a certain woman named Martha received him into her house. %%% Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye. 42LUK010.039 And she had a sister called Mary, which also sat at Jesus' feet, and heard his word. %%% Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awuliranga ekigambo kye. 42LUK010.040 But Martha was cumbered about much serving, and came to him, and said, Lord, dost thou not care that my sister hath left me to serve alone? bid her therefore that she help me. %%% Naye Maliza yabanga n'emitawaana egy'okuweereza okungi; n'ajja w'ali, n'amugamba nti Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? kale mugambe annyambe. 42LUK010.041 And Jesus answered and said unto her, Martha, Martha, thou art careful and troubled about many things: %%% Naye Mukama waffe n'addamu n'amugamba nti Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; 42LUK010.042 But one thing is needful: and Mary hath chosen that good part, which shall not be taken away from her. %%% naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako. 42LUK011.001 And it came to pass, that, as he was praying in a certain place, when he ceased, one of his disciples said unto him, Lord, teach us to pray, as John also taught his disciples. %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'ali mu kifo ng'asaba, bwe yamala, ku bayigirizwa be omu n'amugamba nti Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be. 42LUK011.002 And he said unto them, When ye pray, say, Our Father which art in heaven, Hallowed be thy name. Thy kingdom come. Thy will be done, as in heaven, so in earth. %%% N'abagamba nti Bwe musabanga, mugambanga nti Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. 42LUK011.003 Give us day by day our daily bread. %%% Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey'olunaku. 42LUK011.004 And forgive us our sins; for we also forgive every one that is indebted to us. And lead us not into temptation; but deliver us from evil. %%% Era otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa. 42LUK011.005 And he said unto them, Which of you shall have a friend, and shall go unto him at midnight, and say unto him, Friend, lend me three loaves; %%% N'abagamba nti Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu; 42LUK011.006 For a friend of mine in his journey is come to me, and I have nothing to set before him? %%% kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge; 42LUK011.007 And he from within shall answer and say, Trouble me not: the door is now shut, and my children are with me in bed; I cannot rise and give thee. %%% n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa? 42LUK011.008 I say unto you, Though he will not rise and give him, because he is his friend, yet because of his importunity he will rise and give him as many as he needeth. %%% Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwano gwe, naye olw'okutayirira kwe anaagolokoka n'amuwa byonna bye yeetaaga. 42LUK011.009 And I say unto you, Ask, and it shall be given you; seek, and ye shall find; knock, and it shall be opened unto you. %%% Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo. 42LUK011.010 For every one that asketh receiveth; and he that seeketh findeth; and to him that knocketh it shall be opened. %%% Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. 42LUK011.011 If a son shall ask bread of any of you that is a father, will he give him a stone? or if he ask a fish, will he for a fish give him a serpent? %%% Era ani ku mmwe kitaawe w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? oba ekyennyanja, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyennyanja? 42LUK011.012 Or if he shall ask an egg, will he offer him a scorpion? %%% Oba bw'alisaba eggi, n'amuwa enjaba? 42LUK011.013 If ye then, being evil, know how to give good gifts unto your children: how much more shall your heavenly Father give the Holy Spirit to them that ask him? %%% Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba. 42LUK011.014 And he was casting out a devil, and it was dumb. And it came to pass, when the devil was gone out, the dumb spake; and the people wondered. %%% Yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako, kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya. 42LUK011.015 But some of them said, He casteth out devils through Beelzebub the chief of the devils. %%% Naye abamu ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni. 42LUK011.016 And others, tempting him, sought of him a sign from heaven. %%% N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema. 42LUK011.017 But he, knowing their thoughts, said unto them, Every kingdom divided against itself is brought to desolation; and a house divided against a house falleth. %%% Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa. 42LUK011.018 If Satan also be divided against himself, how shall his kingdom stand? because ye say that I cast out devils through Beelzebub. %%% Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli. 42LUK011.019 And if I by Beelzebub cast out devils, by whom do your sons cast them out? therefore shall they be your judges. %%% Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kyebaliva baba abalamuzi bammwe. 42LUK011.020 But if I with the finger of God cast out devils, no doubt the kingdom of God is come upon you. %%% Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. 42LUK011.021 When a strong man armed keepeth his palace, his goods are in peace: %%% Omuntu ow'amaanyi ng'alina ebyokulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe: 42LUK011.022 But when a stronger than he shall come upon him, and overcome him, he taketh from him all his armour wherein he trusted, and divideth his spoils. %%% naye amusinga amaanyi bw'amujjira n'amuwangula, amunyagako ebyokulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye. 42LUK011.023 He that is not with me is against me: and he that gathereth not with me scattereth. %%% Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 42LUK011.024 When the unclean spirit is gone out of a man, he walketh through dry places, seeking rest; and finding none, he saith, I will return unto my house whence I came out. %%% Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Ka nzireyo mu nnyumba yange mwe nnava. 42LUK011.025 And when he cometh, he findeth it swept and garnished. %%% Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa. 42LUK011.026 Then goeth he, and taketh to him seven other spirits more wicked than himself; and they enter in, and dwell there: and the last state of that man is worse than the first. %%% Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu, ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye. 42LUK011.027 And it came to pass, as he spake these things, a certain woman of the company lifted up her voice, and said unto him, Blessed is the womb that bare thee, and the paps which thou hast sucked. %%% Awo olwatuuka ng'ayogera ebyo, omukazi ow'omu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako. 42LUK011.028 But he said, Yea rather, blessed are they that hear the word of God, and keep it. %%% Naye ye n'agamba nti Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma. 42LUK011.029 And when the people were gathered thick together, he began to say, This is an evil generation: they seek a sign; and there shall no sign be given it, but the sign of Jonas the prophet. %%% Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atanula okugamba nti Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, so tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona. 42LUK011.030 For as Jonas was a sign unto the Ninevites, so shall also the Son of man be to this generation. %%% Kuba Yona nga bwe yali akabonero eri ab'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'aliba eri emirembe gino. 42LUK011.031 The queen of the south shall rise up in the judgment with the men of this generation, and condemn them: for she came from the utmost parts of the earth to hear the wisdom of Solomon; and, behold, a greater than Solomon is here. %%% Kabaka omukazi ow'obukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasinza omusango: kubanga yava ku nkomerero z'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano. 42LUK011.032 The men of Nineve shall rise up in the judgment with this generation, and shall condemn it: for they repented at the preaching of Jonas; and, behold, a greater than Jonas is here. %%% Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano. 42LUK011.033 No man, when he hath lighted a candle, putteth it in a secret place, neither under a bushel, but on a candlestick, that they which come in may see the light. %%% Tewali akoleeza ttabaaza n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka. 42LUK011.034 The light of the body is the eye: therefore when thine eye is single, thy whole body also is full of light; but when thine eye is evil, thy body also is full of darkness. %%% Ettabaaza y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza. 42LUK011.035 Take heed therefore that the light which is in thee be not darkness. %%% Kale weekuumenga omusana ogukulimu gulemenga okubeera ekizikiza. 42LUK011.036 If thy whole body therefore be full of light, having no part dark, the whole shall be full of light, as when the bright shining of a candle doth give thee light. %%% Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula omusana, nga tegulina kitundu kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula musana ng'ettabaaza bw'ekumulisiza n'okutangaala kwayo. 42LUK011.037 And as he spake, a certain Pharisee besought him to dine with him: and he went in, and sat down to meat. %%% Awo bwe yali ng'ayogera, Omufalisaayo n'amuyita okulya emmere ewuwe: n'ayingira n'atuula ku mmere. 42LUK011.038 And when the Pharisee saw it, he marvelled that he had not first washed before dinner. %%% Omufalisaayo bwe yalaba, ne yeewuunya kubanga tasoose kunaaba nga tannalya. 42LUK011.039 And the Lord said unto him, Now do ye Pharisees make clean the outside of the cup and the platter; but your inward part is full of ravening and wickedness. %%% Mukama waffe n'amugamba nti Mmwe Abafalisaayo munaaza kungulu w'ekikompe n'ow'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi. 42LUK011.040 Ye fools, did not he that made that which is without make that which is within also? %%% Mmwe abasiru, oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda? 42LUK011.041 But rather give alms of such things as ye have; and, behold, all things are clean unto you. %%% Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli. 42LUK011.042 But woe unto you, Pharisees! for ye tithe mint and rue and all manner of herbs, and pass over judgment and the love of God: these ought ye to have done, and not to leave the other undone. %%% Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye omusango n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo. 42LUK011.043 Woe unto you, Pharisees! for ye love the uppermost seats in the synagogues, and greetings in the markets. %%% Zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga mwagala entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale. 42LUK011.044 Woe unto you, scribes and Pharisees, hypocrites! for ye are as graves which appear not, and the men that walk over them are not aware of them. %%% Zibasanze! kubanga mufaanana amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako nga tebagamanyi. 42LUK011.045 Then answered one of the lawyers, and said unto him, Master, thus saying thou reproachest us also. %%% Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'addamu n'amugamba nti Omuyigiriza, bw'ogamba bw'otyo ovuma naffe. 42LUK011.046 And he said, Woe unto you also, ye lawyers! for ye lade men with burdens grievous to be borne, and ye yourselves touch not the burdens with one of your fingers. %%% N'agamba nti Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe. 42LUK011.047 Woe unto you! for ye build the sepulchres of the prophets, and your fathers killed them. %%% Zibasanze! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye bajjajjammwe be baabatta. 42LUK011.048 Truly ye bear witness that ye allow the deeds of your fathers: for they indeed killed them, and ye build their sepulchres. %%% Bwe mutyo muli bajulirwa era musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo baabatta, nammwe muzimba amalaalo gaabwe. 42LUK011.049 Therefore also said the wisdom of God, I will send them prophets and apostles, and some of them they shall slay and persecute: %%% N'amagezi ga Katonda kyegaava gagamba nti Ndibatumira bannabbi n'abatume; abamu ku bo balibatta balibayigganya; 42LUK011.050 That the blood of all the prophets, which was shed from the foundation of the world, may be required of this generation; %%% omusaayi gwa bannabbi bonna, ogwayiika okuva ku kutondebwa kw'ensi, gubuuzibwe eri emirembe gino; 42LUK011.051 From the blood of Abel unto the blood of Zacharias, which perished between the altar and the temple: verily I say unto you, It shall be required of this generation. %%% okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulibuuzibwa eri emirembe gino. 42LUK011.052 Woe unto you, lawyers! for ye have taken away the key of knowledge: ye entered not in yourselves, and them that were entering in ye hindered. %%% Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! Kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza. 42LUK011.053 And as he said these things unto them, the scribes and the Pharisees began to urge him vehemently, and to provoke him to speak of many things: %%% Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi; 42LUK011.054 Laying wait for him, and seeking to catch something out of his mouth, that they might accuse him. %%% nga bamutega, okutega ekigambo ekinaava mu kamwa ke, balyoke bamuwawaabire. 42LUK012.001 In the mean time, when there were gathered together an innumerable multitude of people, insomuch that they trode one upon another, he began to say unto his disciples first of all, Beware ye of the leaven of the Pharisees, which is hypocrisy. %%% Mu biro ebyo abantu b'ekibiina obukumi n'obukumi bwe baali bakuŋŋaanye n'okulinnyagana nga balinnyagana, n'asookera ku bayigirizwa be okubagamba nti Mwekuumenga ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo, bwe bunnanfuusi. 42LUK012.002 For there is nothing covered, that shall not be revealed; neither hid, that shall not be known. %%% Naye tewali ekyabikkibwa ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakisibwa ekitalitegeerwa. 42LUK012.003 Therefore whatsoever ye have spoken in darkness shall be heard in the light; and that which ye have spoken in the ear in closets shall be proclaimed upon the housetops. %%% Kale byonna bye mwali mwogeredde mu kizikiza biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwali mwogeredde mu kutu mu bisenge kiribuulirirwa ku kasolya k'ennyumba. 42LUK012.004 And I say unto you my friends, Be not afraid of them that kill the body, and after that have no more that they can do. %%% Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluyannyuma abatalina kigambo kya kukola ekisingawo. 42LUK012.005 But I will forewarn you whom ye shall fear: Fear him, which after he hath killed hath power to cast into hell; yea, I say unto you, Fear him. %%% Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga. 42LUK012.006 Are not five sparrows sold for two farthings, and not one of them is forgotten before God? %%% Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? naye tewali n'emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. 42LUK012.007 But even the very hairs of your head are all numbered. Fear not therefore: ye are of more value than many sparrows. %%% Naye n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe musinga enkazaluggya ennyingi. 42LUK012.008 Also I say unto you, Whosoever shall confess me before men, him shall the Son of man also confess before the angels of God: %%% Era mbagamba nti Buli alinjatulira mu maaso g'abantu, oyo Omwana w'omuntu naye alimwatulira mu maaso ga bamalayika ba Katonda; 42LUK012.009 But he that denieth me before men shall be denied before the angels of God. %%% naye anneegaanira mu maaso g'abantu alyegaanirwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 42LUK012.010 And whosoever shall speak a word against the Son of man, it shall be forgiven him: but unto him that blasphemeth against the Holy Ghost it shall not be forgiven. %%% Na buli muntu ayogera ekigambo ku Mwana w'omuntu kirimusonyiyibwa: naye oyo avvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa. 42LUK012.011 And when they bring you unto the synagogues, and unto magistrates, and powers, take ye no thought how or what thing ye shall answer, or what ye shall say: %%% Era bwe babaleetanga mu makuŋŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaddamu oba kye munaayogera; 42LUK012.012 For the Holy Ghost shall teach you in the same hour what ye ought to say. %%% kubanga Omwoyo Omutukuvu anaabayigirizanga mu kiseera ekyo ebibagwanidde okwogera. 42LUK012.013 And one of the company said unto him, Master, speak to my brother, that he divide the inheritance with me. %%% Awo omuntu ow'omu kibiina n'amugamba nti Omuyigiriza, gamba muganda wange agabane nange eby'obusika bwaffe. 42LUK012.014 And he said unto him, Man, who made me a judge or a divider over you? %%% Naye ye n'amugamba nti Omuntu, ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi wammwe? 42LUK012.015 And he said unto them, Take heed, and beware of covetousness: for a man's life consisteth not in the abundance of the things which he possesseth. %%% N'abagamba nti Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo. 42LUK012.016 And he spake a parable unto them, saying, The ground of a certain rich man brought forth plentifully: %%% N'abagerera olugero ng'agamba nti Waaliwo omuntu omugagga, ennimiro ye n'eyeza: 42LUK012.017 And he thought within himself, saying, What shall I do, because I have no room where to bestow my fruits? %%% n'alowooza munda mu ye ng'agamba nti Nnaakola ntya, kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange? 42LUK012.018 And he said, This will I do: I will pull down my barns, and build greater; and there will I bestow all my fruits and my goods. %%% N'agamba nti Nnaakola bwe nti: nnaamenya amawanika gange ne nzimba amalala agasinga obunene; ne nkuŋŋaanyiza omwo emmere yange enkalu yonna n'ebintu byange. 42LUK012.019 And I will say to my soul, Soul, thou hast much goods laid up for many years; take thine ease, eat, drink, and be merry. %%% Ndigamba emmeeme yange nti Emmeeme, olina ebintu bingi ebiterekeddwa eby'emyaka emingi; wummula, olye, onywe, osanyuke. 42LUK012.020 But God said unto him, Thou fool, this night thy soul shall be required of thee: then whose shall those things be, which thou hast provided? %%% Naye Katonda n'amugamba nti Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by'otegese binaaba by'ani? 42LUK012.021 So is he that layeth up treasure for himself, and is not rich toward God. %%% Bw'atyo bw'ali eyeeterekera obugagga, so nga si mugagga eri Katonda. 42LUK012.022 And he said unto his disciples, Therefore I say unto you, Take no thought for your life, what ye shall eat; neither for the body, what ye shall put on. %%% N'agamba abayigirizwa be nti Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala. 42LUK012.023 The life is more than meat, and the body is more than raiment. %%% Kubanga obulamu businga emmere, n'omubiri gusinga ebyokwambala. 42LUK012.024 Consider the ravens: for they neither sow nor reap; which neither have storehouse nor barn; and God feedeth them: how much more are ye better than the fowls? %%% Mulowooze bannamuŋŋoona, bwe batasiga so tebakungula; abatalina tterekero, newakubadde eggwanika; era Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi? 42LUK012.025 And which of you with taking thought can add to his stature one cubit? %%% Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera ku bukulu bwe omukono ogumu? 42LUK012.026 If ye then be not able to do that thing which is least, why take ye thought for the rest? %%% Kale bwe mutayinza ekisinga obutono, kiki ekibeeraliikiriza ebirala? 42LUK012.027 Consider the lilies how they grow: they toil not, they spin not; and yet I say unto you, that Solomon in all his glory was not arrayed like one of these. %%% Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambalanga ng'erimu ku go. 42LUK012.028 If then God so clothe the grass, which is to day in the field, and to morrow is cast into the oven; how much more will he clothe you, O ye of little faith? %%% Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'oku ttale, ogubaawo leero, enkya nga bagusuula ku kikoomi; talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? 42LUK012.029 And seek not ye what ye shall eat, or what ye shall drink, neither be ye of doubtful mind. %%% Nammwe temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, so temubanga na myoyo egibuusabuusa. 42LUK012.030 For all these things do the nations of the world seek after: and your Father knoweth that ye have need of these things. %%% Kubanga ebintu ebyo byonna binoonyezebwa amawanga ag'ensi: naye Kitammwe amanyi nga mwetaaga ebyo. 42LUK012.031 But rather seek ye the kingdom of God; and all these things shall be added unto you. %%% Naye munoonye obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwako. 42LUK012.032 Fear not, little flock; for it is your Father's good pleasure to give you the kingdom. %%% Totyanga, ggwe ekisibo ekitono; kubanga Kitammwe asiima okubawa mmwe obwakabaka. 42LUK012.033 Sell that ye have, and give alms; provide yourselves bags which wax not old, a treasure in the heavens that faileth not, where no thief approacheth, neither moth corrupteth. %%% Mutundenga bye muli nabyo, muwengayo eby'okusaasira; mwetungirenga ensawo ezitakaddiwa, obugagga obutaggwaawo mu ggulu; omubbi gy'atasembera, n'ennyenje gye zitayonoonera. 42LUK012.034 For where your treasure is, there will your heart be also. %%% Kubanga obugagga bwammwe gye buli, n'emitima gyammwe gye giribeera. 42LUK012.035 Let your loins be girded about, and your lights burning; %%% Mwesibenga ebimyu mu biwato byammwe, n'ettabaaza zammwe nga zaaka; 42LUK012.036 And ye yourselves like unto men that wait for their lord, when he will return from the wedding; that when he cometh and knocketh, they may open unto him immediately. %%% nammwe bennyini mubeerenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'aliddira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'alijja n'akoona ku luggi, bamuggulirewo amangu ago. 42LUK012.037 Blessed are those servants, whom the lord when he cometh shall find watching: verily I say unto you, that he shall gird himself, and make them to sit down to meat, and will come forth and serve them. %%% Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja b'alisanga nga batunula; mazima mbagamba ng'alyesiba n'abatuuza ku mmere, n'ajja n'abaweereza. 42LUK012.038 And if he shall come in the second watch, or come in the third watch, and find them so, blessed are those servants. %%% Awo bw'alijja mu kisisimuka eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga bw'atyo, balina omukisa abaddu abo. 42LUK012.039 And this know, that if the goodman of the house had known what hour the thief would come, he would have watched, and not have suffered his house to be broken through. %%% Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa. 42LUK012.040 Be ye therefore ready also: for the Son of man cometh at an hour when ye think not. %%% Nammwe mweteeketeekenga: kubanga Omwana w'omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza. 42LUK012.041 Then Peter said unto him, Lord, speakest thou this parable unto us, or even to all? %%% Peetero n'agamba nti Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe nantiki bonna? 42LUK012.042 And the Lord said, Who then is that faithful and wise steward, whom his lord shall make ruler over his household, to give them their portion of meat in due season? %%% Mukama waffe n'agamba nti Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo? 42LUK012.043 Blessed is that servant, whom his lord when he cometh shall find so doing. %%% Alina omukisa omuddu oyo mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. 42LUK012.044 Of a truth I say unto you, that he will make him ruler over all that he hath. %%% Mazima mbagamba ng'alimusigira byonna by'ali nabyo. 42LUK012.045 But and if that servant say in his heart, My lord delayeth his coming; and shall begin to beat the menservants and maidens, and to eat and drink, and to be drunken; %%% Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atanula okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira; 42LUK012.046 The lord of that servant will come in a day when he looketh not for him, and at an hour when he is not aware, and will cut him in sunder, and will appoint him his portion with the unbelievers. %%% kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza. 42LUK012.047 And that servant, which knew his lord's will, and prepared not himself, neither did according to his will, shall be beaten with many stripes. %%% N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi; 42LUK012.048 But he that knew not, and did commit things worthy of stripes, shall be beaten with few stripes. For unto whomsoever much is given, of him shall be much required: and to whom men have committed much, of him they will ask the more. %%% naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi. 42LUK012.049 I am come to send fire on the earth; and what will I, if it be already kindled? %%% Najja kusuula muliro ku nsi; nagwo oba nga kaakano gwaka, njagala ki? 42LUK012.050 But I have a baptism to be baptized with; and how am I straitened till it be accomplished! %%% Naye nnina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nange nga mbonaabona okutuusa lwe kulituukirizibwa! 42LUK012.051 Suppose ye that I am come to give peace on earth? I tell you, Nay; but rather division: %%% Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti Nedda; wabula okwawukana obwawukanyi; 42LUK012.052 For from henceforth there shall be five in one house divided, three against two, and two against three. %%% kubanga okutanula kaakano walibaawo bataano mu nnyumba emu nga baawukanye, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu. 42LUK012.053 The father shall be divided against the son, and the son against the father; the mother against the daughter, and the daughter against the mother; the mother in law against her daughter in law, and the daughter in law against her mother in law. %%% Balyawukana, kitaawe n'omwana we, era omwana ne kitaawe; nnyina ne muwala we, era omuwala ne nnyina; era nnyazaala ne muka mwana we, era muka mwana we ne nnyazaala we. 42LUK012.054 And he said also to the people, When ye see a cloud rise out of the west, straightway ye say, There cometh a shower; and so it is. %%% N'agamba ebibiina nabyo nti Bwe mulaba ekire nga kyekuluumulula ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti Enkuba eneetonnya; era bwe kiba bwe kityo. 42LUK012.055 And when ye see the south wind blow, ye say, There will be heat; and it cometh to pass. %%% Bwe mulaba empewo ng'efuluma bukiika obwa ddyo mugamba nti Linaaba bbugumu; era bwe kiba. 42LUK012.056 Ye hypocrites, ye can discern the face of the sky and of the earth; but how is it that ye do not discern this time? %%% Bannanfuusi, mumanyi okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eggulu; naye kiki ekibalobera okumanya okukebera obudde buno? 42LUK012.057 Yea, and why even of yourselves judge ye not what is right? %%% Era nammwe mwekka ekibalobera kiki okusala eby'ensonga? 42LUK012.058 When thou goest with thine adversary to the magistrate, as thou art in the way, give diligence that thou mayest be delivered from him; lest he hale thee to the judge, and the judge deliver thee to the officer, and the officer cast thee into prison. %%% Kubanga bw'oba ogenda n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu kkubo okutabagana n'akuvunaana; aleme okukuwalulira ewa katikkiro, ne katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu kkomera. 42LUK012.059 I tell thee, thou shalt not depart thence, till thou hast paid the very last mite. %%% Nkugamba nti Toliva omwo n'akatono, okutuusa lw'olisasulirira ddala buli ssente. 42LUK013.001 There were present at that season some that told him of the Galilaeans, whose blood Pilate had mingled with their sacrifices. %%% Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo abaamubuulira eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe. 42LUK013.002 And Jesus answering said unto them, Suppose ye that these Galilaeans were sinners above all the Galilaeans, because they suffered such things? %%% N'addamu n'abagamba nti Mulowooza nga Abagaliraaya abo baali boonoonyi okusinga Abagaliraaya bonna, kubanga baabonyaabonyezebwa batyo? 42LUK013.003 I tell you, Nay: but, except ye repent, ye shall all likewise perish. %%% Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe mutyo. 42LUK013.004 Or those eighteen, upon whom the tower in Siloam fell, and slew them, think ye that they were sinners above all men that dwelt in Jerusalem? %%% Oba bali ekkumi n'omunaana, ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwako ne kibatta, mulowooza baali bakozi ba bubi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemi? 42LUK013.005 I tell you, Nay: but, except ye repent, ye shall all likewise perish. %%% Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe nnyo. 42LUK013.006 He spake also this parable; A certain man had a fig tree planted in his vineyard; and he came and sought fruit thereon, and found none. %%% N'ayogera olugero luno, nti Waaliwo omuntu eyalina omutiini ogwali gusimbiddwa mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'ajja ng'agunoonyaako ebibala n'atabiraba. 42LUK013.007 Then said he unto the dresser of his vineyard, Behold, these three years I come seeking fruit on this fig tree, and find none: cut it down; why cumbereth it the ground? %%% N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba; guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere? 42LUK013.008 And he answering said unto him, Lord, let it alone this year also, till I shall dig about it, and dung it: %%% Ye n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno era, ngutemeretemere, nguteekeko obusa; 42LUK013.009 And if it bear fruit, well: and if not, then after that thou shalt cut it down. %%% bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kirungi; naye oba nga si bwe kityo, oligutema. 42LUK013.010 And he was teaching in one of the synagogues on the sabbath. %%% Awo ku lunaku lwa ssabbiiti yali ng'ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro. 42LUK013.011 And, behold, there was a woman which had a spirit of infirmity eighteen years, and was bowed together, and could in no wise lift up herself. %%% Era, laba, omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka ekkumi n'omunaana; ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono. 42LUK013.012 And when Jesus saw her, he called her to him, and said unto her, Woman, thou art loosed from thine infirmity. %%% Awo Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo. 42LUK013.013 And he laid his hands on her: and immediately she was made straight, and glorified God. %%% N'amussaako emikono, amangu ago n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda. 42LUK013.014 And the ruler of the synagogue answered with indignation, because that Jesus had healed on the sabbath day, and said unto the people, There are six days in which men ought to work: in them therefore come and be healed, and not on the sabbath day. %%% Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro bwe yanyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu: kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti. 42LUK013.015 The Lord then answered him, and said, Thou hypocrite, doth not each one of you on the sabbath loose his ox or his ass from the stall, and lead him away to watering? %%% Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti Bannanfuusi, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa? 42LUK013.016 And ought not this woman, being a daughter of Abraham, whom Satan hath bound, lo, these eighteen years, be loosed from this bond on the sabbath day? %%% Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibirwa Setaani, laba, emyaka kkumi na munaana, tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti? 42LUK013.017 And when he had said these things, all his adversaries were ashamed: and all the people rejoiced for all the glorious things that were done by him. %%% Awo bwe yali ng'ayogera ebyo, abalabe be bonna ne baswala: n'ekibiina kyonna ne basanyukira byonna eby'ekitiibwa ebikoleddwa ye. 42LUK013.018 Then said he, Unto what is the kingdom of God like? and whereunto shall I resemble it? %%% Kyeyava agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? era nnaabufaananya na ki? 42LUK013.019 It is like a grain of mustard seed, which a man took, and cast into his garden; and it grew, and waxed a great tree; and the fowls of the air lodged in the branches of it. %%% Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo. 42LUK013.020 And again he said, Whereunto shall I liken the kingdom of God? %%% Ate n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda nnaabufaananya na ki? 42LUK013.021 It is like leaven, which a woman took and hid in three measures of meal, till the whole was leavened. %%% Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka. 42LUK013.022 And he went through the cities and villages, teaching, and journeying toward Jerusalem. %%% N'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'ayigiriza ng'agenda e Yerusaalemi. 42LUK013.023 Then said one unto him, Lord, are there few that be saved? And he said unto them, %%% Omuntu n'amugamba nti Mukama wange, be batono abalokolebwa? Ye n'abagamba nti 42LUK013.024 Strive to enter in at the strait gate: for many, I say unto you, will seek to enter in, and shall not be able. %%% Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza. 42LUK013.025 When once the master of the house is risen up, and hath shut to the door, and ye begin to stand without, and to knock at the door, saying, Lord, Lord, open unto us; and he shall answer and say unto you, I know you not whence ye are: %%% Nannyini nnyumba bw'alimala okugolokoka, n'aggalawo oluggi, ne musooka okuyimirira ebweru, n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva; 42LUK013.026 Then shall ye begin to say, We have eaten and drunk in thy presence, and thou hast taught in our streets. %%% ne mulyoka mutanula okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe; 42LUK013.027 But he shall say, I tell you, I know you not whence ye are; depart from me, all ye workers of iniquity. %%% kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi; mwenna abakola ebitali bya butuukirivu. 42LUK013.028 There shall be weeping and gnashing of teeth, when ye shall see Abraham, and Isaac, and Jacob, and all the prophets, in the kingdom of God, and you yourselves thrust out. %%% Eyo eribaayo okukaaba n'okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, nammwe nga musuuliddwa ebweru. 42LUK013.029 And they shall come from the east, and from the west, and from the north, and from the south, and shall sit down in the kingdom of God. %%% Balijja nga bava ebuvanjuba n'ebugwanjuba, n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo, balituula mu bwakabaka bwa Katonda. 42LUK013.030 And, behold, there are last which shall be first, and there are first which shall be last. %%% Era, laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma. 42LUK013.031 The same day there came certain of the Pharisees, saying unto him, Get thee out, and depart hence: for Herod will kill thee. %%% Mu kiseera ekyo Abafalisaayo ne bajja, ne bamugamba nti Va wano, weegendere: kubanga Kerode ayagala kukutta. 42LUK013.032 And he said unto them, Go ye, and tell that fox, Behold, I cast out devils, and I do cures to day and to morrow, and the third day I shall be perfected. %%% N'abagamba nti Mugende mugambe enkerettanyi eyo nti Laba, ngoba dayimooni mponya abantu leero n'enkya, ne ku lunaku olw'okusatu ndituukirizibwa. 42LUK013.033 Nevertheless I must walk to day, and to morrow, and the day following: for it cannot be that a prophet perish out of Jerusalem. %%% Naye kiŋŋwanidde okutambulako leero n'enkya n'olw'ebbiri; kubanga tekiyinzika nnabbi kuzikiririra bweru wa Yerusaalemi. 42LUK013.033 O Jerusalem, Jerusalem, which killest the prophets, and stonest them that are sent unto thee; how often would I have gathered thy children together, as a hen doth gather her brood under her wings, and ye would not! %%% Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'ali! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bw'ayo mu biwaawaatiro byayo, so temwakkiriza! 42LUK013.035 Behold, your house is left unto you desolate: and verily I say unto you, Ye shall not see me, until the time come when ye shall say, Blessed is he that cometh in the name of the Lord. %%% Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama. 42LUK014.001 And it came to pass, as he went into the house of one of the chief Pharisees to eat bread on the sabbath day, that they watched him. %%% Awo olwatuuka bwe yayingira ku ssabbiiti mu nnyumba y'omukulu w'Abafalisaayo omu okulya emmere ne bamulabirira. 42LUK014.002 And, behold, there was a certain man before him which had the dropsy. %%% Era, laba, waaliwo omuntu mu maaso ge, eyali alwadde entumbi. 42LUK014.003 And Jesus answering spake unto the lawyers and Pharisees, saying, Is it lawful to heal on the sabbath day? %%% Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo? 42LUK014.004 And they held their peace. And he took him, and healed him, and let him go; %%% Naye ne basirika. N'amukwatako n'amuwonya, n'amusiibula. 42LUK014.005 And answered them, saying, Which of you shall have an ass or an ox fallen into a pit, and will not straightway pull him out on the sabbath day? %%% N'abagamba nti Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye ng'egudde mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku ssabbiiti? 42LUK014.006 And they could not answer him again to these things. %%% Ne batayinza ate kumuddamu ebyo. 42LUK014.007 And he put forth a parable to those which were bidden, when he marked how they chose out the chief rooms; saying unto them, %%% N'agerera olugero abo abaayitibwa bwe yalaba engeri gye beeroboza ebifo eby'okumwanjo; n'abagamba nti 42LUK014.008 When thou art bidden of any man to a wedding, sit not down in the highest room; lest a more honourable man than thou be bidden of him; %%% Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo kya ku mwanjo, mpozzi waleme okubaawo akusinga ekitiibwa gw'ayise, 42LUK014.009 And he that bade thee and him come and say to thee, Give this man place; and thou begin with shame to take the lowest room. %%% n’oli eyakuyise ggwe naye n'ajja, n'akugamba nti Segulira ono; n'olyoka otanula n'ensonyi okutwala ekifo eky'ennyuma. 42LUK014.010 But when thou art bidden, go and sit down in the lowest room; that when he that bade thee cometh, he may say unto thee, Friend, go up higher: then shalt thou have worship in the presence of them that sit at meat with thee. %%% Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'ennyuma, eyakuyise bw'anajjanga, akugambe nti Mukwano bwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere. 42LUK014.011 For whosoever exalteth himself shall be abased; and he that humbleth himself shall be exalted. %%% Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa. 42LUK014.012 Then said he also to him that bade him, When thou makest a dinner or a supper, call not thy friends, nor thy brethren, neither thy kinsmen, nor thy rich neighbours; lest they also bid thee again, and a recompence be made thee. %%% Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; mpozzi baleme okukuyita nate nabo, ne wabaawo okukusasula. 42LUK014.013 But when thou makest a feast, call the poor, the maimed, the lame, the blind: %%% Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso: 42LUK014.014 And thou shalt be blessed; for they cannot recompense thee: for thou shalt be recompensed at the resurrection of the just. %%% era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: kubanga olisasulirwa mu kuzuukira kw'abatuukirivu. 42LUK014.015 And when one of them that sat at meat with him heard these things, he said unto him, Blessed is he that shall eat bread in the kingdom of God. %%% Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda. 42LUK014.016 Then said he unto him, A certain man made a great supper, and bade many: %%% Naye n'amugamba nti Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene; n'ayita bangi: 42LUK014.017 And sent his servant at supper time to say to them that were bidden, Come; for all things are now ready. %%% n'atuma omuddu we obudde obw'embaga nga butuuse okugamba bali abayitiddwa, nti Mujje; kubanga bimaze okutegekebwa. 42LUK014.018 And they all with one consent began to make excuse. The first said unto him, I have bought a piece of ground, and I must needs go and see it: I pray thee have me excused. %%% Bonna n'emmeeme emu ne batanula okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa. 42LUK014.019 And another said, I have bought five yoke of oxen, and I go to prove them: I pray thee have me excused. %%% N'omulala n'agamba nti Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzikema; nkwegayiridde nsonyiwa. 42LUK014.020 And another said, I have married a wife, and therefore I cannot come. %%% N'omulala n'agamba nti Mpasizza omukazi, kyennaava nnema okuyinza okujja. 42LUK014.021 So that servant came, and shewed his lord these things. Then the master of the house being angry said to his servant, Go out quickly into the streets and lanes of the city, and bring in hither the poor, and the maimed, and the halt, and the blind. %%% Awo omuddu oyo n'ajja n'abuulira mukama we ebyo. Awo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera. 42LUK014.022 And the servant said, Lord, it is done as thou hast commanded, and yet there is room. %%% Omuddu n'agamba nti Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebbanga. 42LUK014.023 And the lord said unto the servant, Go out into the highways and hedges, and compel them to come in, that my house may be filled. %%% Mukama we n'agamba omuddu nti Fuluma ogende mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule. 42LUK014.024 For I say unto you, That none of those men which were bidden shall taste of my supper. %%% Kubanga mbagamba nti Bali abaayitibwa, tewali n'omu alirega ku mbaga yange. 42LUK014.025 And there went great multitudes with him: and he turned, and said unto them, %%% Awo ebibiina binene byali bigenda naye; n'akyuka n'abagamba nti 42LUK014.026 If any man come to me, and hate not his father, and mother, and wife, and children, and brethren, and sisters, yea, and his own life also, he cannot be my disciple. %%% Omuntu bw'anajjanga gye adi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. 42LUK014.027 And whosoever doth not bear his cross, and come after me, cannot be my disciple. %%% Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'ajja ennyuma wange, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. 42LUK014.028 For which of you, intending to build a tower, sitteth not down first, and counteth the cost, whether he have sufficient to finish it? %%% Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala? 42LUK014.029 Lest haply, after he hath laid the foundation, and is not able to finish it, all that behold it begin to mock him, %%% Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi bw'atayinza kugimaliriza, bonna abalaba batanula okumusekerera, 42LUK014.030 Saying, This man began to build, and was not able to finish. %%% nga bagamba nti Omuntu ono yasooka okuzimba n'atayinza kumala. 42LUK014.031 Or what king, going to make war against another king, sitteth not down first, and consulteth whether he be able with ten thousand to meet him that cometh against him with twenty thousand? %%% Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasookakutuula n'ateesa ebigambo, oba ng'ayinza n'akakumi okusisinkana n'oli amujjira n'obukumi obubiri? 42LUK014.032 Or else, while the other is yet a great way off, he sendeth an ambassage, and desireth conditions of peace. %%% Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyaali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana. 42LUK014.033 So likewise, whosoever he be of you that forsaketh not all that he hath, he cannot be my disciple. %%% Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. 42LUK014.034 Salt is good: but if the salt have lost his savour, wherewith shall it be seasoned? %%% Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki? 42LUK014.035 It is neither fit for the land, nor yet for the dunghill; but men cast it out. He that hath ears to hear, let him hear. %%% Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire. 42LUK015.001 Then drew near unto him all the publicans and sinners for to hear him. %%% Awo abawooza bonna n'abalina ebibi baali nga bamusemberera okumuwulira. 42LUK015.002 And the Pharisees and scribes murmured, saying, This man receiveth sinners, and eateth with them. %%% Abafalisaayo era n'abawandiisi ne beemulugunya, nga bagamba nti Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo. 42LUK015.003 And he spake this parable unto them, saying, %%% N'abagerera olugero luno, ng'agamba nti 42LUK015.004 What man of you, having an hundred sheep, if he lose one of them, doth not leave the ninety and nine in the wilderness, and go after that which is lost, until he find it? %%% Muntu ki ku mmwe alina endiga ekikumi, bw'abulwako emu, ataleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agoberera eri eyabuze, okutuusa lw'aligiraba? 42LUK015.005 And when he hath found it, he layeth it on his shoulders, rejoicing. %%% Kale bw'agiraba, agissa ku kibegabega kye ng'asanyuka. 42LUK015.006 And when he cometh home, he calleth together his friends and neighbours, saying unto them, Rejoice with me; for I have found my sheep which was lost. %%% Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyabadde ebuze. 42LUK015.007 I say unto you, that likewise joy shall be in heaven over one sinner that repenteth, more than over ninety and nine just persons, which need no repentance. %%% Mbagamba nti Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda, abateetaaga kwenenya. 42LUK015.008 Either what woman having ten pieces of silver, if she lose one piece, doth not light a candle, and sweep the house, and seek diligently till she find it? %%% Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi, bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttabaaza n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula? 42LUK015.009 And when she hath found it, she calleth her friends and her neighbours together, saying, Rejoice with me; for I have found the piece which I had lost. %%% Bw'agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be nagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde erupiya eyabadde embuze. 42LUK015.010 Likewise, I say unto you, there is joy in the presence of the angels of God over one sinner that repenteth. %%% Mbagamba nti Bwe kityo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya. 42LUK015.011 And he said, A certain man had two sons: %%% N'agamba nti Waaliwo omuntu eyalina batabani be babiri: 42LUK015.012 And the younger of them said to his father, Father, give me the portion of goods that falleth to me. And he divided unto them his living. %%% omuto n'agamba kitaawe nti Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe. 42LUK015.013 And not many days after the younger son gathered all together, and took his journey into a far country, and there wasted his substance with riotous living. %%% Awo oluvannyuma lw'ennaku si nnyingi, oyo omwana omuto n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'atambula n'agenda mu nsi ey'ewala; n'asaasaanyiza eyo ebintu bye mu mpisa embi. 42LUK015.014 And when he had spent all, there arose a mighty famine in that land; and he began to be in want. %%% Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atanula okudaagana. 42LUK015.015 And he went and joined himself to a citizen of that country; and he sent him into his fields to feed swine. %%% N'agenda ne yeegatta n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okulundanga embizzi. 42LUK015.016 And he would fain have filled his belly with the husks that the swine did eat: and no man gave unto him. %%% Ne yeegombanga okukkuta ebikuta embizzi bye zaalyanga: ne watabaawo muntu amuwa. 42LUK015.017 And when he came to himself, he said, How many hired servants of my father's have bread enough and to spare, and I perish with hunger! %%% Naye bwe yeddamu, n'agamba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala! 42LUK015.018 I will arise and go to my father, and will say unto him, Father, I have sinned against heaven, and before thee, %%% Nnaagoloka ne ŋŋenda eri kitange, ne mmugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu manso go; 42LUK015.019 And am no more worthy to be called thy son: make me as one of thy hired servants. %%% sikyasaana kuyitibwa mwana wo; nfuula ng'omu ku baweereza bo ab'empeera. 42LUK015.020 And he arose, and came to his father. But when he was yet a great way off, his father saw him, and had compassion, and ran, and fell on his neck, and kissed him. %%% N'agolokoka n'ajja eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'addukana mbiro, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera nnyo. 42LUK015.021 And the son said unto him, Father, I have sinned against heaven, and in thy sight, and am no more worthy to be called thy son. %%% Oyo omwana n'amugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo. 42LUK015.022 But the father said to his servants, Bring forth the best robe, and put it on him; and put a ring on his hand, and shoes on his feet: %%% Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye: 42LUK015.023 And bring hither the fatted calf, and kill it; and let us eat, and be merry: %%% muleete n'ennyana eya ssava, mugitte, tulye, tusanyuke; 42LUK015.024 For this my son was dead, and is alive again; he was lost, and is found. And they began to be merry. %%% kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse. Ne batandika okusanyuka. 42LUK015.025 Now his elder son was in the field: and as he came and drew nigh to the house, he heard musick and dancing. %%% Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina. 42LUK015.026 And he called one of the servants, and asked what these things meant. %%% Ku baddu n'ayitako omu, n'amubuuza ebyo bwe bibadde. 42LUK015.027 And he said unto him, Thy brother is come; and thy father hath killed the fatted calf, because he hath received him safe and sound. %%% N'amugamba nti Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu: 42LUK015.028 And he was angry, and would not go in: therefore came his father out, and intreated him. %%% Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: kitaawe n'afuluma n'amwegayirira. 42LUK015.029 And he answering said to his father, Lo, these many years do I serve thee, neither transgressed I at any time thy commandment: and yet thou never gavest me a kid, that I might make merry with my friends: %%% Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga na kabuzi ka kusanyuka ne mikwano gyange; 42LUK015.030 But as soon as this thy son was come, which hath devoured thy living with harlots, thou hast killed for him the fatted calf. %%% naye omwana wo oyo, eyalya eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava. 42LUK015.031 And he said unto him, Son, thou art ever with me, and all that I have is thine. %%% Ye n'amugamba nti Mwana wange, ggwe bulijjo ng'oli wamu nange, era byonna ebyange bye bibyo. 42LUK015.032 It was meet that we should make merry, and be glad: for this thy brother was dead, and is alive again; and was lost, and is found. %%% Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse. 42LUK016.001 And he said also unto his disciples, There was a certain rich man, which had a steward; and the same was accused unto him that he had wasted his goods. %%% Awo n'agamba abayigirizwa be nabo nti Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye. 42LUK016.002 And he called him, and said unto him, How is it that I hear this of thee? give an account of thy stewardship; for thou mayest be no longer steward. %%% N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga toyinza nate kubeera muwanika. 42LUK016.003 Then the steward said within himself, What shall I do? for my lord taketh away from me the stewardship: I cannot dig; to beg I am ashamed. %%% Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anziyako obuwanika bwange? sirina galima; n'okusabiriza nkwatibwa ensonyi. 42LUK016.004 I am resolved what to do, that, when I am put out of the stewardship, they may receive me into their houses. %%% Mmanyi kye nnaakola, bwe nnaagobebwa mu buwanika, bansembeze mu nnyumba zaabwe. 42LUK016.005 So he called every one of his lord's debtors unto him, and said unto the first, How much owest thou unto my lord? %%% N'ayita buli alina ebbanja lya mukama we, n'agamba ow'olubereberye nti Mukama wange akubanja ki? 42LUK016.006 And he said, An hundred measures of oil. And he said unto him, Take thy bill, and sit down quickly, and write fifty. %%% N'agamba nti Ebigera by'amafuta kikumi. N'amugamba nti Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike amakumi ataano. 42LUK016.007 Then said he to another, And how much owest thou? And he said, An hundred measures of wheat. And he said unto him, Take thy bill, and write fourscore. %%% Ate n'agamba omulala nti Naawe obanjibwa ki? N'agamba nti Emitwalo gy'eŋŋaano kikumi. N'amugamba nti Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana. 42LUK016.008 And the lord commended the unjust steward, because he had done wisely: for the children of this world are in their generation wiser than the children of light. %%% Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omulyazaamaanyi kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana. 42LUK016.009 And I say unto you, Make to yourselves friends of the mammon of unrighteousness; that, when ye fail, they may receive you into everlasting habitations. %%% Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo. 42LUK016.010 He that is faithful in that which is least is faithful also in much: and he that is unjust in the least is unjust also in much. %%% Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi. 42LUK016.011 If therefore ye have not been faithful in the unrighteous mammon, who will commit to your trust the true riches? %%% Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima? 42LUK016.012 And if ye have not been faithful in that which is another man's, who shall give you that which is your own? %%% Era bwe mutaabenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyammwe ani alikibawa? 42LUK016.013 No servant can serve two masters: for either he will hate the one, and love the other; or else he will hold to the one, and despise the other. Ye cannot serve God and mammon. %%% Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omutala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona. 42LUK016.014 And the Pharisees also, who were covetous, heard all these things: and they derided him. %%% N'Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera. 42LUK016.015 And he said unto them, Ye are they which justify yourselves before men; but God knoweth your hearts: for that which is highly esteemed among men is abomination in the sight of God. %%% N'abagamba nti Mmwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maaso g'abantu; naye Katonda amanyi emitima gyammwe; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kya muzizo mu maaso ga Katonda. 42LUK016.016 The law and the prophets were until John: since that time the kingdom of God is preached, and every man presseth into it. %%% Amateeka ne bannabbi byabaawo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maanyi. 42LUK016.017 And it is easier for heaven and earth to pass, than one tittle of the law to fail. %%% Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga ennukuta emu ey'amateeka okuggwaawo. 42LUK016.018 Whosoever putteth away his wife, and marrieth another, committeth adultery: and whosoever marrieth her that is put away from her husband committeth adultery. %%% Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze. 42LUK016.019 There was a certain rich man, which was clothed in purple and fine linen, and fared sumptuously every day: %%% Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, ng'asanyukanga bulijjo mu kwesiima: 42LUK016.020 And there was a certain beggar named Lazarus, which was laid at his gate, full of sores, %%% era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo eyagalamizibwanga ku mulyango gwe, eyali awummusewummuse amabwa, 42LUK016.021 And desiring to be fed with the crumbs which fell from the rich man's table: moreover the dogs came and licked his sores. %%% nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zimukombereranga amabwa ge. 42LUK016.022 And it came to pass, that the beggar died, and was carried by the angels into Abraham's bosom: the rich man also died, and was buried; %%% Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika nassibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga n'afa, n'aziikibwa. 42LUK016.023 And in hell he lift up his eyes, being in torments, and seeth Abraham afar off, and Lazarus in his bosom. %%% N'ayimusiza amaaso ge mu Magombe ng'ali mu kulumizibwa, n'alengera Ibulayimu wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye. 42LUK016.024 And he cried and said, Father Abraham, have mercy on me, and send Lazarus, that he may dip the tip of his finger in water, and cool my tongue; for I am tormented in this flame. %%% N'ayogerera waggulu n'agamba nti Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, ampozeewoze olulimi lwange; kubanga nnumwa mu muliro guno. 42LUK016.025 But Abraham said, Son, remember that thou in thy lifetime receivedst thy good things, and likewise Lazarus evil things: but now he is comforted, and thou art tormented. %%% Naye Ibulayimu n'amugamba nti Mwana wange, jjukira nga waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa. 42LUK016.026 And beside all this, between us and you there is a great gulf fixed: so that they which would pass from hence to you cannot; neither can they pass to us, that would come from thence. %%% Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gye tuli. 42LUK016.027 Then he said, I pray thee therefore, father, that thou wouldest send him to my father's house: %%% N'agamba nti Kale, nkwegayiridde, kitange, omutume mu nnyumba ya kitange; 42LUK016.028 For I have five brethren; that he may testify unto them, lest they also come into this place of torment. %%% kubanga nnina ab'oluganda bataano; abategeeze baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa. 42LUK016.029 Abraham saith unto him, They have Moses and the prophets; let them hear them. %%% Naye Ibulayimu n'agamba nti Balina Musa ne bannabbi; babawulirenga abo. 42LUK016.030 And he said, Nay, father Abraham: but if one went unto them from the dead, they will repent. %%% N'agamba nti Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gye bali balyenenya. 42LUK016.031 And he said unto him, If they hear not Moses and the prophets, neither will they be persuaded, though one rose from the dead. %%% N'amugamba nti Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa. 42LUK017.001 Then said he unto the disciples, It is impossible but that offences will come: but woe unto him, through whom they come! %%% N'agamba abayigirizwa be nti Tekiyinzika ebisittaza obutajja; naye zimusanze oyo abireeta! 42LUK017.002 It were better for him that a millstone were hanged about his neck, and he cast into the sea, than that he should offend one of these little ones. %%% Waakiri oyo okusibwa olubengo mu bulago bwe, okusuulibwa mu nnyanja, okusinga okusittaza omu ku abo abato. 42LUK017.003 Take heed to yourselves: If thy brother trespass against thee, rebuke him; and if he repent, forgive him. %%% Mwekuumenga: muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga. 42LUK017.004 And if he trespass against thee seven times in a day, and seven times in a day turn again to thee, saying, I repent; thou shalt forgive him. %%% Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga. 42LUK017.005 And the apostles said unto the Lord, Increase our faith. %%% Abatume ne bagamba Mukama waffe nti Otwongereko okukkiriza. 42LUK017.006 And the Lord said, If ye had faith as a grain of mustard seed, ye might say unto this sycamine tree, Be thou plucked up by the root, and be thou planted in the sea; and it should obey you. %%% Mukama waffe n'agamba nti Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde. 42LUK017.007 But which of you, having a servant plowing or feeding cattle, will say unto him by and by, when he is come from the field, Go and sit down to meat? %%% Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu ago otuule olye; 42LUK017.008 And will not rather say unto him, Make ready wherewith I may sup, and gird thyself, and serve me, till I have eaten and drunken; and afterward thou shalt eat and drink? %%% naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe? 42LUK017.009 Doth he thank that servant because he did the things that were commanded him? I trow not. %%% Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa? 42LUK017.010 So likewise ye, when ye shall have done all those things which are commanded you, say, We are unprofitable servants: we have done that which was our duty to do. %%% Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze. 42LUK017.011 And it came to pass, as he went to Jerusalem, that he passed through the midst of Samaria and Galilee. %%% Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya. 42LUK017.012 And as he entered into a certain village, there met him ten men that were lepers, which stood afar off: %%% Awo bwe yayingira mu mbuga emu ne bamusisinkana abantu kkumi abagenge, abaayimirira ewala; 42LUK017.013 And they lifted up their voices, and said, Jesus, Master, have mercy on us. %%% ne boogerera waggulu ne bagamba nti Yesu, Mukama waffe, otusaasire. 42LUK017.014 And when he saw them, he said unto them, Go shew yourselves unto the priests. And it came to pass, that, as they went, they were cleansed. %%% Bwe yabalaba n'abagamba nti Mugende mwerage eri bakabona. Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. 42LUK017.015 And one of them, when he saw that he was healed, turned back, and with a loud voice glorified God, %%% Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; 42LUK017.016 And fell down on his face at his feet, giving him thanks: and he was a Samaritan. %%% n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya. 42LUK017.017 And Jesus answering said, Were there not ten cleansed? but where are the nine? %%% Yesu n'addamu nagamba nti Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? naye bali omwenda bali ludda wa? 42LUK017.018 There are not found that returned to give glory to God, save this stranger. %%% Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono? 42LUK017.019 And he said unto him, Arise, go thy way: thy faith hath made thee whole. %%% N'amugamba nti Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza. 42LUK017.020 And when he was demanded of the Pharisees, when the kingdom of God should come, he answered them and said, The kingdom of God cometh not with observation: %%% Bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bujja ddi? n'abaddamu n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese: 42LUK017.021 Neither shall they say, Lo here! or, lo there! for, behold, the kingdom of God is within you. %%% so tebaligamba nti Laba, buli wano! Oba nti Buli wali! Kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli munda yammwe! 42LUK017.022 And he said unto the disciples, The days will come, when ye shall desire to see one of the days of the Son of man, and ye shall not see it. %%% N'agamba abayigirizwa be nti Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba. 42LUK017.023 And they shall say to you, See here; or, see there: go not after them, nor follow them. %%% Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temugobereranga; 42LUK017.024 For as the lightning, that lighteneth out of the one part under heaven, shineth unto the other part under heaven; so shall also the Son of man be in his day. %%% kubanga okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, nga bwe kumasamasiza ne ku luuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe. 42LUK017.025 But first must he suffer many things, and be rejected of this generation. %%% Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ebingi n'okugaanibwa ab'emirembe gino. 42LUK017.026 And as it was in the days of Noe, so shall it be also in the days of the Son of man. %%% Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z’Omwana, w'omuntu. 42LUK017.027 They did eat, they drank, they married wives, they were given in marriage, until the day that Noe entered into the ark, and the flood came, and destroyed them all. %%% Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna. 42LUK017.028 Likewise also as it was in the days of Lot; they did eat, they drank, they bought, they sold, they planted, they builded; %%% Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basiga, nga bazimba; 42LUK017.029 But the same day that Lot went out of Sodom it rained fire and brimstone from heaven, and destroyed them all. %%% naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna: 42LUK017.030 Even thus shall it be in the day when the Son of man is revealed. %%% bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa. 42LUK017.031 In that day, he which shall be upon the housetop, and his stuff in the house, let him not come down to take it away: and he that is in the field, let him likewise not return back. %%% Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga nnyuma. 42LUK017.032 Remember Lot's wife. %%% Mujjukire mukazi wa Lutti. 42LUK017.033 Whosoever shall seek to save his life shall lose it; and whosoever shall lose his life shall preserve it. %%% Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya. 42LUK017.034 I tell you, in that night there shall be two men in one bed; the one shall be taken, and the other shall be left. %%% Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 42LUK017.035 Two women shall be grinding together; the one shall be taken, and the other left. %%% Abakazi babiri baliba nga baseera wamu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 42LUK017.036 Two men shall be in the field; the one shall be taken, and the other left. %%% Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 42LUK017.037 And they answered and said unto him, Where, Lord? And he said unto them, Wheresoever the body is, thither will the eagles be gathered together. %%% Ne baddamu ne bamugamba nti Wa, Mukama waffe? N'abagamba nti Awaba omulambo eyo n'ensega we zirikuŋŋaanira. 42LUK018.001 And he spake a parable unto them to this end, that men ought always to pray, and not to faint; %%% N'abagerera olugero bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga; 42LUK018.002 Saying, There was in a city a judge, which feared not God, neither regarded man: %%% n'agamba nti Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatya Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa; 42LUK018.003 And there was a widow in that city; and she came unto him, saying, Avenge me of mine adversary. %%% era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; n'ajjanga w'ali ng'agamba nti Nnamula n'omulabe wange. 42LUK018.004 And he would not for a while: but afterward he said within himself, Though I fear not God, nor regard man; %%% N'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa; 42LUK018.005 Yet because this widow troubleth me, I will avenge her, lest by her continual coming she weary me. %%% naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganya nnamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata. 42LUK018.006 And the Lord said, Hear what the unjust judge saith. %%% Mukama waffe n'agamba nti Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'agamba. 42LUK018.007 And shall not God avenge his own elect, which cry day and night unto him, though he bear long with them? %%% Kale ne Katonda taliramula balondebe abamukaabirira emisana n'ekiro, ng'akyagumiikiriza? 42LUK018.008 I tell you that he will avenge them speedily. Nevertheless when the Son of man cometh, shall he find faith on the earth? %%% Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'alijja, aliraba okukkiriza ku nsi? 42LUK018.009 And he spake this parable unto certain which trusted in themselves that they were righteous, and despised others: %%% N'abalala abaali beerowooza ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, n'abagamba olugero luno, nti 42LUK018.010 Two men went up into the temple to pray; the one a Pharisee, and the other a publican. %%% Abantu babiri baalinnya mu yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza. 42LUK018.011 The Pharisee stood and prayed thus with himself, God, I thank thee, that I am not as other men are, extortioners, unjust, adulterers, or even as this publican. %%% Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza. 42LUK018.012 I fast twice in the week, I give tithes of all that I possess. %%% Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna. 42LUK018.013 And the publican, standing afar off, would not lift up so much as his eyes unto heaven, but smote upon his breast, saying, God be merciful to me a sinner. %%% Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibi. 42LUK018.014 I tell you, this man went down to his house justified rather than the other: for every one that exalteth himself shall be abased; and he that humbleth himself shall be exalted. %%% Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa. 42LUK018.015 And they brought unto him also infants, that he would touch them: but when his disciples saw it, they rebuked them. %%% Awo ne baleeta n'abaana abato w'ali, okubakomako: naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera. 42LUK018.016 But Jesus called them unto him, and said, Suffer little children to come unto me, and forbid them not: for of such is the kingdom of God. %%% Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. 42LUK018.017 Verily I say unto you, Whosoever shall not receive the kingdom of God as a little child shall in no wise enter therein. %%% Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono. 42LUK018.018 And a certain ruler asked him, saying, Good Master, what shall I do to inherit eternal life? %%% N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo? 42LUK018.019 And Jesus said unto him, Why callest thou me good? none is good, save one, that is, God. %%% Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda. 42LUK018.020 Thou knowest the commandments, Do not commit adultery, Do not kill, Do not steal, Do not bear false witness, Honour thy father and thy mother. %%% Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko. 42LUK018.021 And he said, All these have I kept from my youth up. %%% N'agamba nti Ebyo byonna nnabikwatanga okuva mu buto bwange. 42LUK018.022 Now when Jesus heard these things, he said unto him, Yet lackest thou one thing: sell all that thou hast, and distribute unto the poor, and thou shalt have treasure in heaven: and come, follow me. %%% Yesu bwe yawulira n'amugamba nti Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere. 42LUK018.023 And when he heard this, he was very sorrowful: for he was very rich. %%% Naye bwe yawulira ebyo n'anakuwala nnyo; kubanga yali mugagga nnyo. 42LUK018.024 And when Jesus saw that he was very sorrowful, he said, How hardly shall they that have riches enter into the kingdom of God! %%% Awo Yesu bwe yamulaba n'agamba nti Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 42LUK018.025 For it is easier for a camel to go through a needle's eye, than for a rich man to enter into the kingdom of God. %%% Kubanga kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 42LUK018.025 And they that heard it said, Who then can be saved? %%% Abaawulira ne bagamba nti Kale ani ayinza okulokoka? 42LUK018.027 And he said, The things which are impossible with men are possible with God. %%% Naye n'agamba nti Ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda. 42LUK018.028 Then Peter said, Lo, we have left all, and followed thee. %%% Peetero n'agamba nti Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera. 42LUK018.029 And he said unto them, Verily I say unto you, There is no man that hath left house, or parents, or brethren, or wife, or children, for the kingdom of God's sake, %%% N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda, 42LUK018.030 Who shall not receive manifold more in this present time, and in the world to come life everlasting. %%% ataweebwa nate emirundi mingi mu biro bino, ne mu biro ebigenda okujja obulamu obutaggwaawo. 42LUK018.031 Then he took unto him the twelve, and said unto them, Behold, we go up to Jerusalem, and all things that are written by the prophets concerning the Son of man shall be accomplished. %%% N'atwala abo ekkumi n'ababiri n'abagamba nti Laba, tulinnya e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi birituukirira ku Mwana w'omuntu. 42LUK018.032 For he shall be delivered unto the Gentiles, and shall be mocked, and spitefully entreated, and spitted on: %%% Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga, aliduulirwa, aligirirwa ekyejo, aliwandirwa amalusu: 42LUK018.033 And they shall scourge him, and put him to death: and the third day he shall rise again. %%% balimukuba enkoba, balimutta; era ku lunaku olw'okusatu alizuukira. 42LUK018.034 And they understood none of these things: and this saying was hid from them, neither knew they the things which were spoken. %%% Nabo ne batategeerawo ku ebyo n'ekimu; n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa. 42LUK018.035 And it came to pass, that as he was come nigh unto Jericho, a certain blind man sat by the way side begging: %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'anaatera okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaaso yali ng'atudde ku kkubo ng'asabiriza; 42LUK018.036 And hearing the multitude pass by, he asked what it meant. %%% awo bwe yawulira ekibiina nga kiyita, n'abuuza nti kiki ekyo: 42LUK018.037 And they told him, that Jesus of Nazareth passeth by. %%% Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaaleesi ayita. 42LUK018.038 And he cried, saying, Jesus, thou son of David, have mercy on me. %%% N'ayogerera waggulu ng'agamba nti Yesu, omwana wa Dawudi, onsassire. 42LUK018.039 And they which went before rebuked him, that he should hold his peace: but he cried so much the more, Thou son of David, have mercy on me. %%% N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire. 42LUK018.040 And Jesus stood, and commanded him to be brought unto him: and when he was come near, he asked him, %%% Yesu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembera okumpi, n'amubuuza nti 42LUK018.041 Saying, What wilt thou that I shall do unto thee? And he said, Lord, that I may receive my sight. %%% Oyagala nkukolere ki? N'agamba nti Mukama wange, njagala okuzibula. 42LUK018.042 And Jesus said unto him, Receive thy sight: thy faith hath saved thee. %%% Yesu n'amugamba nti Zibula: okukkiriza kwo kukulokodde. 42LUK018.043 And immediately he received his sight, and followed him, glorifying God: and all the people, when they saw it, gave praise unto God. %%% Amangu ago n'azibula, n'amugoberera ng'agulumiza Katonda: n'abantu bonna bwe baalaba ne batendereza Katonda. 42LUK019.001 And Jesus entered and passed through Jericho. %%% Nayingira mu Yeriko n'aba ng'agiyitamu. 42LUK019.002 And, behold, there was a man named Zacchaeus, which was the chief among the publicans, and he was rich. %%% Kale, laba, waaliwo omuntu eyali ayitibwa erinnya lye Zaakayo, naye yali mukulu w'ebawooza, era nga mugagga. 42LUK019.003 And he sought to see Jesus who he was; and could not for the press, because he was little of stature. %%% N'asala amagezi okulaba Yesu bw'ali; n'atayinza olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yali mumpi. 42LUK019.004 And he ran before, and climbed up into a sycomore tree to see him: for he was to pass that way. %%% N'adduka n'akulembera, n'alinnya ku muti omusukomooli amulabe: kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo. 42LUK019.005 And when Jesus came to the place, he looked up, and saw him, and said unto him, Zacchaeus, make haste, and come down; for to day I must abide at thy house. %%% Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwaaidde okutuula mu nnyumba yo. 42LUK019.006 And he made haste, and came down, and received him joyfully. %%% N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka. 42LUK019.007 And when they saw it, they all murmured, saying, That he was gone to be guest with a man that is a sinner. %%% Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza bonna, nga bagamba nti Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi. 42LUK019.008 And Zacchaeus stood, and said unto the Lord; Behold, Lord, the half of my goods I give to the poor; and if I have taken any thing from any man by false accusation, I restore him fourfold. %%% Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti Laba, Mukama wange, ekitundu ky'ebintu byange mbawa abaavu; oba nga nnalyazaamaanya omuntu yenna ekintu kye, mmuliyira emirundi ena. 42LUK019.009 And Jesus said unto him, This day is salvation come to this house, forsomuch as he also is a son of Abraham. %%% Yesu n'amugamba nti Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu. 42LUK019.010 For the Son of man is come to seek and to save that which was lost. %%% Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula. 42LUK019.011 And as they heard these things, he added and spake a parable, because he was nigh to Jerusalem, and because they thought that the kingdom of God should immediately appear. %%% Awo bwe baawulira ebyo ne yeeyongera n'agera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangu ago. 42LUK019.012 He said therefore, A certain nobleman went into a far country to receive for himself a kingdom, and to return. %%% Kyeyava agamba nti Waaliwo omuntu omukulu eyagenda mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka alyoke akomewo. 42LUK019.013 And he called his ten servants, and delivered them ten pounds, and said unto them, Occupy till I come. %%% N'ayita abaddu be kkumi, n'abawa ensimbi ebikumi bibiri, n'abagamba nti Musuubuzenga okutuusa we ndijjira. 42LUK019.014 But his citizens hated him, and sent a message after him, saying, We will not have this man to reign over us. %%% Naye basajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka ennyuma we, nga bagamba nti Tetwagala oyo kutufuga. 42LUK019.015 And it came to pass, that when he was returned, having received the kingdom, then he commanded these servants to be called unto him, to whom he had given the money, that he might know how much every man had gained by trading. %%% Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, n'alagira okuyita abaddu abo be yawa effeeza, alyoke amanye amagoba ge baasuubula. 42LUK019.016 Then came the first, saying, Lord, thy pound hath gained ten pounds. %%% Ow'olubereberye n'ajja n'agamba nti Mukama wange, ensimbi zo amakumi abiri gaagobamu ensimbi bibiri. 42LUK019.017 And he said unto him, Well, thou good servant: because thou hast been faithful in a very little, have thou authority over ten cities. %%% N'amugamba nti Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale ba n'obuyinza ku bibuga kkumi. 42LUK019.018 And the second came, saying, Lord, thy pound hath gained five pounds. %%% N'ajja ow'okubiri ng'agamba nti Mukama wange, ensimbi zo abiri zaagobamu ensimbi kikumi. 42LUK019.019 And he said likewise to him, Be thou also over five cities. %%% N'oyo n'amugamba nti Naawe ba ku bibuga bitaano. 42LUK019.020 And another came, saying, Lord, behold, here is thy pound, which I have kept laid up in a napkin: %%% N'omulala n'ajja n'agamba nti Mukama wange, laba, ensimbi zo zino abiri nnazitereka nga zisibiddwa mu kiwero: 42LUK019.021 For I feared thee, because thou art an austere man: thou takest up that thou layedst not down, and reapest that thou didst not sow. %%% kubanga nnakutya kubanga oli munti mukakanyavu: olonda ky'otaateekawo, okungula ky'otaasiga. 42LUK019.022 And he saith unto him, Out of thine own mouth will I judge thee, thou wicked servant. Thou knewest that I was an austere man, taking up that I laid not down, and reaping that I did not sow: %%% N'amugamba nti Akamwa ko kanaakunsaliza omusango, ggwe omuntu omubi. Wali omanyi nga nze ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga; 42LUK019.023 Wherefore then gavest not thou my money into the bank, that at my coming I might have required mine own with usury? %%% kale kiki ekyakulobera okuwa ensimbi zange abasuubuzi nange bwe nnandizze nnandizitutte n'amagoba gaazo? 42LUK019.024 And he said unto them that stood by, Take from him the pound, and give it to him that hath ten pounds. %%% N'agamba abaali bayimiridde awo nti Mumuggyeeko ensimbi ze, muziwe oyo alina ensimbi ebikumi ebibiri 42LUK019.025 (And they said unto him, Lord, he hath ten pounds.) %%% Ne bamugamba nti Mukama waffe, alina ensimbi ebikumi bibiri. 42LUK019.026 For I say unto you, That unto every one which hath shall be given; and from him that hath not, even that he hath shall be taken away from him. %%% Mbagamba nti Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo ky'ali nakyo , kirimuggibwako. 42LUK019.027 But those mine enemies, which would not that I should reign over them, bring hither, and slay them before me. %%% Naye abo abalabe bange abatayagala nze kubafuga, mubaleete wano mubattire mu maaso gange. 42LUK019.028 And when he had thus spoken, he went before, ascending up to Jerusalem. %%% Awo bwe yamala okwogera ebyo n'akulembera n'alinnya e Yerusaalemi. 42LUK019.029 And it came to pass, when he was come nigh to Bethphage and Bethany, at the mount called the mount of Olives, he sent two of his disciples, %%% Awo olwatuuka bwe yali ng'anaatera okutuuka e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, 42LUK019.030 Saying, Go ye into the village over against you; in the which at your entering ye shall find a colt tied, whereon yet never man sat: loose him, and bring him hither. %%% ng'agamba nti Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete 42LUK019.031 And if any man ask you, Why do ye loose him? thus shall ye say unto him, Because the Lord hath need of him. %%% Era omuntu bw'ababuuza nti Mugusumululira ki? mugambe bwe mutyo nti Mukama waffe ye agwetaaga. 42LUK019.032 And they that were sent went their way, and found even as he had said unto them. %%% N'abo abaatumibwa ne bagenda, ne balaba nga bw'abagambye. 42LUK019.033 And as they were loosing the colt, the owners thereof said unto them, Why loose ye the colt? %%% Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi bannannyini gwo ne babagamba nti Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo? 42LUK019.034 And they said, The Lord hath need of him. %%% Ne bagamba nti Mukama waffe ye agwetaaga. 42LUK019.035 And they brought him to Jesus: and they cast their garments upon the colt, and they set Jesus thereon. %%% Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliira engoye zaabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagazaako Yesu. 42LUK019.036 And as he went, they spread their clothes in the way. %%% Awo yali ng'agenda ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo. 42LUK019.037 And when he was come nigh, even now at the descent of the mount of Olives, the whole multitude of the disciples began to rejoice and praise God with a loud voice for all the mighty works that they had seen; %%% Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batanula okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba; 42LUK019.038 Saying, Blessed be the King that cometh in the name of the Lord: peace in heaven, and glory in the highest. %%% nga bagamba nti Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ennyo. 42LUK019.039 And some of the Pharisees from among the multitude said unto him, Master, rebuke thy disciples. %%% Abafalisaayo abamu ab'omu kibiina ne bamugamba nti Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo. 42LUK019.040 And he answered and said unto them, I tell you that, if these should hold their peace, the stones would immediately cry out. %%% N'addamu n'abagamba nti Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja ganaayogerera waggulu. 42LUK019.041 And when he was come near, he beheld the city, and wept over it, %%% Awo bwe yasembera okumpi, n'alaba ekibuga n'akikaabira, 42LUK019.042 Saying, If thou hadst known, even thou, at least in this thy day, the things which belong unto thy peace! but now they are hid from thine eyes. %%% ng'agamba nti Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go. 42LUK019.043 For the days shall come upon thee, that thine enemies shall cast a trench about thee, and compass thee round, and keep thee in on every side, %%% Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna, 42LUK019.044 And shall lay thee even with the ground, and thy children within thee; and they shall not leave in thee one stone upon another; because thou knewest not the time of thy visitation. %%% balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo. 42LUK019.045 And he went into the temple, and began to cast out them that sold therein, and them that bought; %%% N'ayingira mu yeekaalu, n'asooka okugobamu abaali batunda 42LUK019.046 Saying unto them, It is written, My house is the house of prayer: but ye have made it a den of thieves. %%% ng'abagamba nti Kyawandiikibwa nti Era ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi. 42LUK019.047 And he taught daily in the temple. But the chief priests and the scribes and the chief of the people sought to destroy him, %%% Awo n'ayigirizanga mu yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza: 42LUK019.048 And could not find what they might do: for all the people were very attentive to hear him. %%% ne batalaba kye banaakola; kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwulira. 42LUK020.001 And it came to pass, that on one of those days, as he taught the people in the temple, and preached the gospel, the chief priests and the scribes came upon him with the elders, %%% Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, yali ng'ayigiriza abantu mu yeekaalu, ng'abuulira enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bamujjira; 42LUK020.002 And spake unto him, saying, Tell us, by what authority doest thou these things? or who is he that gave thee this authority? %%% ne boogera nga bamugamba nti Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo? 42LUK020.003 And he answered and said unto them, I will also ask you one thing; and answer me: %%% N'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mumbulire: 42LUK020.004 The baptism of John, was it from heaven, or of men? %%% okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu? 42LUK020.005 And they reasoned with themselves, saying, If we shall say, From heaven; he will say, Why then believed ye him not? %%% Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Bwe tunaagamba Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza? 42LUK020.006 But and if we say, Of men; all the people will stone us: for they be persuaded that John was a prophet. %%% Naye bwe tunaagamba ati Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi. 42LUK020.007 And they answered, that they could not tell whence it was. %%% Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava. 42LUK020.008 And Jesus said unto them, Neither tell I you by what authority I do these things. %%% Yesu n'abagamba nti Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava. 42LUK020.009 Then began he to speak to the people this parable; A certain man planted a vineyard, and let it forth to husbandmen, and went into a far country for a long time. %%% N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo. 42LUK020.010 And at the season he sent a servant to the husbandmen, that they should give him of the fruit of the vineyard: but the husbandmen beat him, and sent him away empty. %%% Awo mu biro by'omwaka abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamusindika nga talina kintu. 42LUK020.011 And again he sent another servant: and they beat him also, and entreated him shamefully, and sent him away empty. %%% N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu. 42LUK020.012 And again he sent a third: and they wounded him also, and cast him out. %%% N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba. 42LUK020.013 Then said the lord of the vineyard, What shall I do? I will send my beloved son: it may be they will reverence him when they see him. %%% Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'agamba nti Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa. 42LUK020.014 But when the husbandmen saw him, they reasoned among themselves, saying, This is the heir: come, let us kill him, that the inheritance may be ours. %%% Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe. 42LUK020.015 So they cast him out of the vineyard, and killed him. What therefore shall the lord of the vineyard do unto them? %%% Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu, ne bamutta. Kale alibakola atya mukama w'olusuku lw'emizabbibu? 42LUK020.016 He shall come and destroy these husbandmen, and shall give the vineyard to others. And when they heard it, they said, God forbid. %%% Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala. Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti Bireme okubaawo. 42LUK020.017 And he beheld them, and said, What is this then that is written, The stone which the builders rejected, the same is become the head of the corner? %%% Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda? 42LUK020.018 Whosoever shall fall upon that stone shall be broken; but on whomsoever it shall fall, it will grind him to powder. %%% Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; naye oyo gwe lirigwako, lirimufuumuula ng'enfuufu. 42LUK020.019 And the chief priests and the scribes the same hour sought to lay hands on him; and they feared the people: for they perceived that he had spoken this parable against them. %%% Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumussaako emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero olwo. 42LUK020.020 And they watched him, and sent forth spies, which should feign themselves just men, that they might take hold of his words, that so they might deliver him unto the power and authority of the governor. %%% Ne bamulabirira, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri okufuga okw'owessaza n'eri obuyinza bwe. 42LUK020.021 And they asked him, saying, Master, we know that thou sayest and teachest rightly, neither acceptest thou the person of any, but teachest the way of God truly: %%% Ne bamubuuza, nga bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda: 42LUK020.022 Is it lawful for us to give tribute unto Caesar, or no? %%% kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo? 42LUK020.023 But he perceived their craftiness, and said unto them, Why tempt ye me? %%% Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti Mundage eddinaali. 42LUK020.024 Shew me a penny. Whose image and superscription hath it? They answered and said, Caesar's. %%% Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani? Bo ne bagamba nti Bya Kayisaali. 42LUK020.025 And he said unto them, Render therefore unto Caesar the things which be Caesar's, and unto God the things which be God's. %%% N'abagamba nti Kale ebya Kayisaali mumusasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumusasulenga Katonda. 42LUK020.026 And they could not take hold of his words before the people: and they marvelled at his answer, and held their peace. %%% Ne batayinza kuggya nsonga mu kigambo ekyo mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika. 42LUK020.027 Then came to him certain of the Sadducees , which deny that there is any resurrection; and they asked him, %%% Abasaddukaayo abamu ne bajja gy'ali, abagamba nti tewali kuzuukira; ne bamubuuza, 42LUK020.028 Saying, Master, Moses wrote unto us, If any man's brother die, having a wife, and he die without children, that his brother should take his wife, and raise up seed unto his brother. %%% nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde. 42LUK020.029 There were therefore seven brethren: and the first took a wife, and died without children. %%% Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana; 42LUK020.030 And the second took her to wife, and he died childless. %%% n'ow'okubiri; 42LUK020.031 And the third took her; and in like manner the seven also: and they left no children, and died. %%% n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bali omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana. 42LUK020.032 Last of all the woman died also. %%% Oluvannyuma n'omukazi n'afa. 42LUK020.033 Therefore in the resurrection whose wife of them is she? for seven had her to wife. %%% Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa. 42LUK020.034 And Jesus answering said unto them, The children of this world marry, and are given in marriage: %%% Yesu n'abagamba nti Abaana b'ensi eno bawasa, bafumbizibwa: 42LUK020.035 But they which shall be accounted worthy to obtain that world, and the resurrection from the dead, neither marry, nor are given in marriage: %%% naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbizibwa: 42LUK020.036 Neither can they die any more: for they are equal unto the angels; and are the children of God, being the children of the resurrection. %%% kubanga n'okufa tebayinza kufa nate: kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira. 42LUK020.037 Now that the dead are raised, even Moses shewed at the bush, when he calleth the Lord the God of Abraham, and the God of Isaac, and the God of Jacob. %%% Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 42LUK020.038 For he is not a God of the dead, but of the living: for all live unto him. %%% Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe. 42LUK020.039 Then certain of the scribes answering said, Master, thou hast well said. %%% Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti Omuyigiriza, oyogedde bulungi. 42LUK020.040 And after that they durst not ask him any question at all. %%% Kubanga tebaayaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate. 42LUK020.041 And he said unto them, How say they that Christ is David's son? %%% N'abagamba nti Boogera batya nga Kristo ye mwana wa Dawudi? 42LUK020.042 And David himself saith in the book of Psalms, The LORD said unto my Lord, Sit thou on my right hand, %%% Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, 42LUK020.043 Till I make thine enemies thy footstool. %%% Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebbe y'ebigere byo. 42LUK020.044 David therefore calleth him Lord, how is he then his son? %%% Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya? 42LUK020.045 Then in the audience of all the people he said unto his disciples, %%% Awo abantu bonna bwe baali nga bamuwulira, n'agamba abayigirizwa be nti 42LUK020.046 Beware of the scribes, which desire to walk in long robes, and love greetings in the markets, and the highest seats in the synagogues, and the chief rooms at feasts; %%% Mwekuumenga abawandiisi; abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; 42LUK020.047 Which devour widows' houses, and for a shew make long prayers: the same shall receive greater damnation. %%% abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene. 42LUK021.001 And he looked up, and saw the rich men casting their gifts into the treasury. %%% Awo n'ayimusa amaaso, n'alaba abagagga abaali basuula ebirabo byabwe mu ggwanika. 42LUK021.002 And he saw also a certain poor widow casting in thither two mites. %%% N'alaba nnamwandu omu omwavu ng'asuula omwo ebitundu by'eppeesa bibiri. 42LUK021.003 And he said, Of a truth I say unto you, that this poor widow hath cast in more than they all: %%% N'agamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna: 42LUK021.004 For all these have of their abundance cast in unto the offerings of God: but she of her penury hath cast in all the living that she had. %%% kubanga abo bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna. 42LUK021.005 And as some spake of the temple, how it was adorned with goodly stones and gifts, he said, %%% Era abamu bwe baali boogera ku yeekaalu, bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti 42LUK021.006 As for these things which ye behold, the days will come, in the which there shall not be left one stone upon another, that shall not be thrown down. %%% Bino bye mulaba, ennaku zigenda kujja, lwe watalirekebwa jjinja eriri ku jjinja wano eritalisuulibwa. 42LUK021.007 And they asked him, saying, Master, but when shall these things be? and what sign will there be when these things shall come to pass? %%% Ne bamubuuza nga bagamba nti Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo? 42LUK021.008 And he said, Take heed that ye be not deceived: for many shall come in my name, saying, I am Christ; and the time draweth near: go ye not therefore after them. %%% N'agamba nti Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja n'erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga. 42LUK021.009 But when ye shall hear of wars and commotions, be not terrified: for these things must first come to pass; but the end is not by and by. %%% Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangu ago. 42LUK021.010 Then said he unto them, Nation shall rise against nation, and kingdom against kingdom: %%% N'alyoka abagamba nti Eggwanga lirirumba eggwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka; 42LUK021.011 And great earthquakes shall be in divers places, and famines, and pestilences; and fearful sights and great signs shall there be from heaven. %%% walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu. 42LUK021.012 But before all these, they shall lay their hands on you, and persecute you, delivering you up to the synagogues, and into prisons, being brought before kings and rulers for my name's sake. %%% Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibassaako emikono, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala eri bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange. 42LUK021.013 And it shall turn to you for a testimony. %%% Kiriba mujulirwa gye muli. 42LUK021.014 Settle it therefore in your hearts, not to meditate before what ye shall answer: %%% Kale mukiteeke mu mitima gyammwe, obutasookanga kulowooza bye muliddamu: 42LUK021.015 For I will give you a mouth and wisdom, which all your adversaries shall not be able to gainsay nor resist. %%% kubanga nze ndibawa akamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana. 42LUK021.016 And ye shall be betrayed both by parents, and brethren, and kinsfolks, and friends; and some of you shall they cause to be put to death. %%% Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibassa. 42LUK021.017 And ye shall be hated of all men for my name's sake. %%% Nammwe mulikyayibwa bonna olw'erinnya lyange. 42LUK021.018 But there shall not an hair of your head perish. %%% N'oluviiri olw'oku mitwe gyammwe terulibula n'akatono. 42LUK021.019 In your patience possess ye your souls. %%% Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe. 42LUK021.020 And when ye shall see Jerusalem compassed with armies, then know that the desolation thereof is nigh. %%% Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. 42LUK021.021 Then let them which are in Judaea flee to the mountains; and let them which are in the midst of it depart out; and let not them that are in the countries enter thereinto. %%% Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n'ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n'ababanga mu byalo tebakiyingirangamu. 42LUK021.022 For these be the days of vengeance, that all things which are written may be fulfilled. %%% Kubanga ezo ze nnaku ez'okuwalana eggwanga, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire. 42LUK021.023 But woe unto them that are with child, and to them that give suck, in those days! for there shall be great distress in the land, and wrath upon this people. %%% Ziribasanga abaliba n'embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! kubanga waliba okulaba ennaku ennyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo. 42LUK021.024 And they shall fall by the edge of the sword, and shall be led away captive into all nations: and Jerusalem shall be trodden down of the Gentiles, until the times of the Gentiles be fulfilled. %%% Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonna; ne Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab'amawanga okutuusa ebiro by'ab'amawanga lwe birituukirira. 42LUK021.025 And there shall be signs in the sun, and in the moon, and in the stars; and upon the earth distress of nations, with perplexity; the sea and the waves roaring; %%% Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'amayengo; 42LUK021.026 Men's hearts failing them for fear, and for looking after those things which are coming on the earth: for the powers of heaven shall be shaken. %%% abantu nga bazirika olw'entiisa n'olw'okutunuulira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa. 42LUK021.027 And then shall they see the Son of man coming in a cloud with power and great glory. %%% Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene. 42LUK021.028 And when these things begin to come to pass, then look up, and lift up your heads; for your redemption draweth nigh. %%% Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka. 42LUK021.029 And he spake to them a parable; Behold the fig tree, and all the trees; %%% N'abagamba olugero; nti Mulabe omutiini n'emiti gyonna; 42LUK021.030 When they now shoot forth, ye see and know of your own selves that summer is now nigh at hand. %%% kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano okukungula kuli kumpi. 42LUK021.031 So likewise ye, when ye see these things come to pass, know ye that the kingdom of God is nigh at hand. %%% Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga, nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi: 42LUK021.032 Verily I say unto you, This generation shall not pass away, till all be fulfilled. %%% Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo. 42LUK021.033 Heaven and earth shall pass away: but my words shall not pass away. %%% Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono. 42LUK021.034 And take heed to yourselves, lest at any time your hearts be overcharged with surfeiting, and drunkenness, and cares of this life, and so that day come upon you unawares. %%% Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika; 42LUK021.035 For as a snare shall it come on all them that dwell on the face of the whole earth. %%% kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna. 42LUK021.036 Watch ye therefore, and pray always, that ye may be accounted worthy to escape all these things that shall come to pass, and to stand before the Son of man. %%% Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu. 42LUK021.037 And in the day time he was teaching in the temple; and at night he went out, and abode in the mount that is called the mount of Olives. %%% Awo buli lunaku yayigirizanga mu yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. 42LUK021.038 And all the people came early in the morning to him in the temple, for to hear him. %%% Abantu bonna ne bakeeranga enkya okugenda gy'ali mu yeekaalu okumuwulira. 42LUK022.001 Now the feast of unleavened bread drew nigh, which is called the Passover. %%% Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali enaatera okutuuka. 42LUK022.002 And the chief priests and scribes sought how they might kill him; for they feared the people. %%% Bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamutta; kubanga baali batya abantu. 42LUK022.003 Then entered Satan into Judas surnamed Iscariot, being of the number of the twelve. %%% Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Isukalyoti eyali ku muwendo gw'abo ekkumi n'ababiri. 42LUK022.004 And he went his way, and communed with the chief priests and captains, how he might betray him unto them. %%% N'agenda, n'ateesa ne bakabona abakulu n'abaami ba sserikale bw'anaamuwaayo gye bali. 42LUK022.005 And they were glad, and covenanted to give him money. %%% Ne basanyuka ne balagaana okumuwa effeeza. 42LUK022.006 And he promised, and sought opportunity to betray him unto them in the absence of the multitude. %%% N'akkiriza n'anoonya ebbanga mw'anaamuweerayo gye bali awatali kibiina. 42LUK022.007 Then came the day of unleavened bread, when the passover must be killed. %%% Awo olunaku olw'emigaati egitazimbulukuswa ne lutuuka, olugwanidde okusalirwako Okuyitako. 42LUK022.008 And he sent Peter and John, saying, Go and prepare us the passover, that we may eat. %%% N'atuma Peetero ne Yokaana ng'agamba nti Mugende mututegekere Okuyitako tugirye. 42LUK022.009 And they said unto him, Where wilt thou that we prepare? %%% Ne bamugamba nti Oyagala tugitegekere wa? 42LUK022.010 And he said unto them, Behold, when ye are entered into the city, there shall a man meet you, bearing a pitcher of water; follow him into the house where he entereth in. %%% N'abagamba nti Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu anaasisinkana nammwe eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere mu nnyumba mw'anaayingira. 42LUK022.011 And ye shall say unto the goodman of the house, The Master saith unto thee, Where is the guestchamber, where I shall eat the passover with my disciples? %%% Munaagamba nnyini nnyumba nti Omuyigiriza akugambye nti Ennyumba y'abagenyi eruwa, mwe nnaaliira Okuyitako awamu n'abayigirizwa bange? 42LUK022.012 And he shall shew you a large upper room furnished: there make ready. %%% Era oyo anaabalaga ennyumba ennene eya waggulu etimbiddwa: mutegekere omwo. 42LUK022.013 And they went, and found as he had said unto them: and they made ready the passover. %%% Ne bagenda, ne balaba nga bw'abagambye: ne bategeka Okuyitako. 42LUK022.014 And when the hour was come, he sat down, and the twelve apostles with him. %%% Awo ekiseera bwe kyatuuka, n'atuula ku mmere, n'abatume awamu naye. 42LUK022.015 And he said unto them, With desire I have desired to eat this passover with you before I suffer: %%% N'abagamba nti Nneegombye nnyo okuliira awamu nammwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa: 42LUK022.016 For I say unto you, I will not any more eat thereof, until it be fulfilled in the kingdom of God. %%% kubanga mbagamba nti Sirikulya n'akatono, okutuusa lwe kulituukirira mu bwakabaka bwa Katonda. 42LUK022.017 And he took the cup, and gave thanks, and said, Take this, and divide it among yourselves: %%% N'addira ekikompe, ne yeebaza n'agamba nti Mutoole kino mugabane mwekka na mwekka: 42LUK022.018 For I say unto you, I will not drink of the fruit of the vine, until the kingdom of God shall come. %%% kubanga mbagamba nti Sirinywa okusooka kaakano bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja. 42LUK022.019 And he took bread, and gave thanks, and brake it, and gave unto them, saying, This is my body which is given for you: this do in remembrance of me. %%% N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze. 42LUK022.020 Likewise also the cup after supper, saying, This cup is the new testament in my blood, which is shed for you. %%% Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya; ng'agamba nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe. 42LUK022.021 But, behold, the hand of him that betrayeth me is with me on the table. %%% Naye, laba, omukono gw'oyo andyamu olukwe guli wamu nange ku mmeeza. 42LUK022.022 And truly the Son of man goeth, as it was determined: but woe unto that man by whom he is betrayed! %%% Kubanga Omwana w'omuntu okugenda agenda, nga bwe kyalagirwa: naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe! 42LUK022.023 And they began to enquire among themselves, which of them it was that should do this thing. %%% Ne batanula okwebuuzaganya bokka na bokka nti anaaba ani ku bo agenda okukola ekyo. 42LUK022.024 And there was also a strife among them, which of them should be accounted the greatest. %%% Ne wabaawo n'empaka mu bo, nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu. 42LUK022.025 And he said unto them, The kings of the Gentiles exercise lordship over them; and they that exercise authority upon them are called benefactors. %%% N'abagamba nti Bakabaka b'ab'amawanga babafuga; n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obultmgi. 42LUK022.026 But ye shall not be so: but he that is greatest among you, let him be as the younger; and he that is chief, as he that doth serve. %%% Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng'omuto; n'oyo akulembera, abe ng'aweereza. 42LUK022.027 For whether is greater, he that sitteth at meat, or he that serveth? is not he that sitteth at meat? but I am among you as he that serveth. %%% Kubanga omukulu ani, atuula ku mmere, oba aweereza? si oyo atuula ku mmere? Naye nze wakati mu mmwe nninga aweereza. 42LUK022.028 Ye are they which have continued with me in my temptations. %%% Naye mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; 42LUK022.029 And I appoint unto you a kingdom, as my Father hath appointed unto me; %%% nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze, 42LUK022.030 That ye may eat and drink at my table in my kingdom, and sit on thrones judging the twelve tribes of Israel. %%% mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abaisiraeri. 42LUK022.031 And the Lord said, Simon, Simon, behold, Satan hath desired to have you, that he may sift you as wheat: %%% Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano: 42LUK022.032 But I have prayed for thee, that thy faith fail not: and when thou art converted, strengthen thy brethren. %%% naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo. 42LUK022.033 And he said unto him, Lord, I am ready to go with thee, both into prison, and to death. %%% N'amugamba nti Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa. 42LUK022.034 And he said, I tell thee, Peter, the cock shall not crow this day, before that thou shalt thrice deny that thou knowest me. %%% N'agamba nti Nkubuulira ggwe, Peetero, enkoko leero tejja kukookolima, nga tonnanneegaana emirundi esatu nti tommanyi. 42LUK022.035 And he said unto them, When I sent you without purse, and scrip, and shoes, lacked ye any thing? And they said, Nothing. %%% N'abagamba nti Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga? Ne bagamba nti Nedda. 42LUK022.036 Then said he unto them, But now, he that hath a purse, let him take it, and likewise his scrip: and he that hath no sword, let him sell his garment, and buy one. %%% N'abagamba nti Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: naye atalina kitala atunde olugoye lwe akigule. 42LUK022.037 For I say unto you, that this that is written must yet be accomplished in me, And he was reckoned among the transgressors: for the things concerning me have an end. %%% Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira. 42LUK022.038 And they said, Lord, behold, here are two swords. And he said unto them, It is enough. %%% Ne bagamba nti Mukama waffe, laba, ebitala bibiri biibino. N'abagamba nti Binaamala. 42LUK022.039 And he came out, and went, as he was wont, to the mount of Olives; and his disciples also followed him. %%% N'afuluma n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera. 42LUK022.040 And when he was at the place, he said unto them, Pray that ye enter not into temptation. %%% Awo bwe yatuuka mu kifo awo, n'abagamba nti Musabe muleme okuyingira mu kukemebwa. 42LUK022.041 And he was withdrawn from them about a stone's cast, and kneeled down, and prayed, %%% Ye n'abaawukanako ebbanga ng'awakasukibwa ejjinja; n'afukamira n'asaba, 42LUK022.042 Saying, Father, if thou be willing, remove this cup from me: nevertheless not my will, but thine, be done. %%% ng'agamba nti Kitange, bw'oyagala, nziyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe. 42LUK022.043 And there appeared an angel unto him from heaven, strengthening him. %%% Malayika n'amulabikira ng'ava mu ggulu ng'amussaamu amaanyi. 42LUK022.044 And being in an agony he prayed more earnestly: and his sweat was as it were great drops of blood falling down to the ground. %%% N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba ennyo: entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonnya wansi. 42LUK022.045 And when he rose up from prayer, and was come to his disciples, he found them sleeping for sorrow, %%% Bwe yagolokoka mu kusaba, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku, 42LUK022.046 And said unto them, Why sleep ye? rise and pray, lest ye enter into temptation. %%% n'abagamba nti Ekibeebasizza ki? mugolokoke musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa. 42LUK022.047 And while he yet spake, behold a multitude, and he that was called Judas, one of the twelve, went before them, and drew near unto Jesus to kiss him. %%% Yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda; omu ku abo ekkumi n'ababiri, ng'abakulembedde; n’asemberera Yesu okumunywegera. 42LUK022.048 But Jesus said unto him, Judas, betrayest thou the Son of man with a kiss? %%% Naye Yesu n'amugamba nti Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera? 42LUK022.049 When they which were about him saw what would follow, they said unto him, Lord, shall we smite with the sword? %%% N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti Mukama waffe, tuteme n'ebitala? 42LUK022.050 And one of them smote the servant of the high priest, and cut off his right ear. %%% N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo. 42LUK022.051 And Jesus answered and said, Suffer ye thus far. And he touched his ear, and healed him. %%% Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Koma ku ekyo kyokka. N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya. 42LUK022.052 Then Jesus said unto the chief priests, and captains of the temple, and the elders, which were come to him, Be ye come out, as against a thief, with swords and staves? %%% Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu yeekaalu, n'abakadde, abaamujjirira nti Munjijiridde ng'omunyazi, n'ebitala n'emiggo? 42LUK022.053 When I was daily with you in the temple, ye stretched forth no hands against me: but this is your hour, and the power of darkness. %%% Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu yeekaalu, temwangololerangako mikono gyammwe: naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza. 42LUK022.054 Then took they him, and led him, and brought him into the high priest's house. And Peter followed afar off. %%% Ne bamukwata, ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'agoberera ng'ava wala. 42LUK022.055 And when they had kindled a fire in the midst of the hall, and were set down together, Peter sat down among them. %%% Awo bwe baali nga bamaze okukuma omuliro wakati mu luggya, nga batudde wamu, Peetero n'atuula wakati mu bo. 42LUK022.056 But a certain maid beheld him as he sat by the fire, and earnestly looked upon him, and said, This man was also with him. %%% Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti N'ono yabadde naye. 42LUK022.057 And he denied him, saying, Woman, I know him not. %%% Ne yeegaana ng'agamba nti Omukazi, simumanyi. 42LUK022.058 And after a little while another saw him, and said, Thou art also of them. And Peter said, Man, I am not. %%% Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti Naawe oli ku bo. Naye Peetero n'agamba nti Omuntu, si nze. 42LUK022.059 And about the space of one hour after another confidently affirmed, saying, Of a truth this fellow also was with him: for he is a Galilaean. %%% Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti Mazima n'ono yabadde wamu naye; kubanga Mugaliraaya. 42LUK022.060 And Peter said, Man, I know not what thou sayest. And immediately, while he yet spake, the cock crew. %%% Naye Peetero n'agamba nti Omuntu, simanyi ky'oyogera. Awo amangu ago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima. 42LUK022.061 And the Lord turned, and looked upon Peter. And Peter remembered the word of the Lord, how he had said unto him, Before the cock crow, thou shalt deny me thrice. %%% Awo Mukama waffe n'akyuka, n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, bwe yamugambye nti Leero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu. 42LUK022.062 And Peter went out, and wept bitterly. %%% N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga. 42LUK022.063 And the men that held Jesus mocked him, and smote him. %%% N'abantu abaali bakutte Yesu ne bamuduulira nga bamukuba. 42LUK022.064 And when they had blindfolded him, they struck him on the face, and asked him, saying, Prophesy, who is it that smote thee? %%% Ne bamubikka mu maaso, ne bamubuuza, nga bagamba nti Lagula: ani akukubye? 42LUK022.065 And many other things blasphemously spake they against him. %%% N'ebirala bingi ne babimwogerako nga bamuvuma. 42LUK022.066 And as soon as it was day, the elders of the people and the chief priests and the scribes came together, and led him into their council, saying, %%% Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne bamutwala mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti 42LUK022.067 Art thou the Christ? tell us. And he said unto them, If I tell you, ye will not believe: %%% Oba nga ggwe Kristo, tubuulire. Naye n'abagamba nti Ne bwe nnaababuulira, temukkirize n'akatono; 42LUK022.068 And if I also ask you, ye will not answer me, nor let me go. %%% ne bwe nnaababuuza, temuddemu n'akatono. 42LUK022.069 Hereafter shall the Son of man sit on the right hand of the power of God. %%% Naye okusooka kaakano Omwana w'omuntu agenda kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi ga Katonda. 42LUK022.070 Then said they all, Art thou then the Son of God? And he said unto them, Ye say that I am. %%% Bonna ne bagamba nti Kale ggwe oli Mwana wa Katonda? N'abagamba nti Nga bwe mwogedde nze nzuuno. 42LUK022.071 And they said, What need we any further witness? for we ourselves have heard of his own mouth. %%% Ne bagamba nti Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye. 42LUK023.001 And the whole multitude of them arose, and led him unto Pilate. %%% Ekibiina kyonna ne kigolokoka, ne kimutwala ewa Piraato. 42LUK023.002 And they began to accuse him, saying, We found this fellow perverting the nation, and forbidding to give tribute to Caesar, saying that he himself is Christ a King. %%% Ne basooka okumuloopa nga bagamba nti Ono twamulaba ng'akyamya eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, ng'ayogera yennyini okuba Kristo, kabaka. 42LUK023.003 And Pilate asked him, saying, Art thou the King of the Jews? And he answered him and said, Thou sayest it. %%% Piraato n'amubuuza, ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? N'amuddamu n'agamba nti Oyogedde. 42LUK023.004 Then said Pilate to the chief priests and to the people, I find no fault in this man. %%% Piraato n'agamba bakabona abakulu n'ebibiina nti Siraba nsonga yonna ku muntu ono. 42LUK023.005 And they were the more fierce, saying, He stirreth up the people, teaching throughout all Jewry, beginning from Galilee to this place. %%% Naye bo ne beeyongera okutayirira nga bagamba nti Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano. 42LUK023.006 When Pilate heard of Galilee, he asked whether the man were a Galilaean. %%% Naye Piraato bwe yawulira, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya. 42LUK023.007 And as soon as he knew that he belonged unto Herod's jurisdiction, he sent him to Herod, who himself also was at Jerusalem at that time. %%% Bwe yategeera nga wa mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga naye yali mu Yerusaalemi mu nnaku ezo. 42LUK023.008 And when Herod saw Jesus, he was exceeding glad: for he was desirous to see him of a long season, because he had heard many things of him; and he hoped to have seen some miracle done by him. %%% Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo; kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero. 42LUK023.009 Then he questioned with him in many words; but he answered him nothing. %%% N'amubuuliriza ebigambo bingi, naye ye n'atamuddamu kigambo. 42LUK023.010 And the chief priests and scribes stood and vehemently accused him. %%% Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira ne banyweza nnyo okumuloopa. 42LUK023.011 And Herod with his men of war set him at nought, and mocked him, and arrayed him in a gorgeous robe, and sent him again to Pilate. %%% Awo Kerode ne basserikale ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato. 42LUK023.012 And the same day Pilate and Herod were made friends together: for before they were at enmity between themselves. %%% Kerode ne Piraato ne balyoka batabagana ku lunaku olwo; kubanga olubereberye baali bakyawaganye. 42LUK023.013 And Pilate, when he had called together the chief priests and the rulers and the people, %%% Piraato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'abantu, 42LUK023.014 Said unto them, Ye have brought this man unto me, as one that perverteth the people: and, behold, I, having examined him before you, have found no fault in this man touching those things whereof ye accuse him: %%% n'abagamba nti Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo bye mumuloopye; 42LUK023.015 No, nor yet Herod: for I sent you to him; and, lo, nothing worthy of death is done unto him. %%% era, newakubadde Kerode, kubanga amuzzizza gye tuli; era, laba, tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussisa: 42LUK023.016 I will therefore chastise him, and release him. %%% kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta. 42LUK023.017 (For of necessity he must release one unto them at the feast.) %%% Era kyamugwaniranga okubateeranga omusibe omu ku mbaga. 42LUK023.018 And they cried out all at once, saying, Away with this man, and release unto us Barabbas: %%% Naye ne bakaayana bonna wamu, nga bagamba nti Twala ono, otuteere Balaba: 42LUK023.019 (Who for a certain sedition made in the city, and for murder, was cast into prison.) %%% ye muntu gwe bassa mu kkomera olw'obujeemu obwali mu kibuga, n'olw'obussi. 42LUK023.020 Pilate therefore, willing to release Jesus, spake again to them. %%% Piraato n'ayogera nabo nate, ng'ayagala okuta Yesu; 42LUK023.021 But they cried, saying, Crucify him, crucify him. %%% naye bo ne boogerera waggulu nga bagamba nti Mukomerere, mukomerere. 42LUK023.022 And he said unto them the third time, Why, what evil hath he done? I have found no cause of death in him: I will therefore chastise him, and let him go. %%% N'abagamba omulundi ogw'okusatu nti Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta. 42LUK023.023 And they were instant with loud voices, requiring that he might be crucified. And the voices of them and of the chief priests prevailed. %%% Naye bo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola. 42LUK023.024 And Pilate gave sentence that it should be as they required. %%% Piraato n'asalawo ebigambo bye beegayiridde. 42LUK023.025 And he released unto them him that for sedition and murder was cast into prison, whom they had desired; but he delivered Jesus to their will. %%% N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde. 42LUK023.026 And as they led him away, they laid hold upon one Simon, a Cyrenian, coming out of the country, and on him they laid the cross, that he might bear it after Jesus. %%% Awo baali nga bamutwala, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka emusalaba, okugwetikka ng'ava ennyuma Yesu. 42LUK023.027 And there followed him a great company of people, and of women, which also bewailed and lamented him. %%% Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abaamukaabira, ne bamulirira. 42LUK023.028 But Jesus turning unto them said, Daughters of Jerusalem, weep not for me, but weep for yourselves, and for your children. %%% Naye Yesu n'abakyukira n'agamba nti Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe. 42LUK023.029 For, behold, the days are coming, in the which they shall say, Blessed are the barren, and the wombs that never bare, and the paps which never gave suck. %%% Kubanga, laba, ennaku zijja, mwe baligambira nti Balina omukisa abagumba, n'embuto ezitazaala n'amabeere agatayonsa. 42LUK023.030 Then shall they begin to say to the mountains, Fall on us; and to the hills, Cover us. %%% Ne balyoka batanula okugamba ensozi nti Mutugweko; n'obusozi nti Mutuvuunikire. 42LUK023.031 For if they do these things in a green tree, what shall be done in the dry? %%% Kubanga bwe bakola bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya? 42LUK023.032 And there were also two other, malefactors, led with him to be put to death. %%% Era yatwalibwa n'abalala babiri, abaakola obubi, okuttirwa awamu naye. 42LUK023.033 And when they were come to the place, which is called Calvary, there they crucified him, and the malefactors, one on the right hand, and the other on the left. %%% Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa kiwanga, ne bamukomererera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ogwa ddyo n'omulala ku gwa kkono. 42LUK023.034 Then said Jesus, Father, forgive them; for they know not what they do. And they parted his raiment, and cast lots. %%% Awo Yesu n'agamba nti Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola. Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu. 42LUK023.035 And the people stood beholding. And the rulers also with them derided him, saying, He saved others; let him save himself, if he be Christ, the chosen of God. %%% Abantu ne bayimirira nga batunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti Yalokolanga balala yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we. 42LUK023.036 And the soldiers also mocked him, coming to him, and offering him vinegar, %%% Basserikale nabo ne bamuduulira nga bajja w'ali, nga bamuwa omwenge omukaatuufu, 42LUK023.037 And saying, If thou be the king of the Jews, save thyself. %%% nga bagamba nti Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wekka. 42LUK023.038 And a superscription also was written over him in letters of Greek, and Latin, and Hebrew, THIS IS THE KING OF THE JEWS. %%% Ne wabaawo n'ebbaluwa waggulu we nti ONO YE KABAKA W’ABAYUDAAYA. 42LUK023.039 And one of the malefactors which were hanged railed on him, saying, If thou be Christ, save thyself and us. %%% Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa n'amuvuma ng’agamba nti Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe. 42LUK023.040 But the other answering rebuked him, saying, Dost not thou fear God, seeing thou art in the same condemnation? %%% Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n’agamba nti N'okutya totya Katonda, kubanga oli ku kibonerezo kye kimu naye? 42LUK023.041 And we indeed justly; for we receive the due reward of our deeds: but this man hath done nothing amiss. %%% Era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisaanidde bye twakola bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo ekitasaana. 42LUK023.042 And he said unto Jesus, Lord, remember me when thou comest into thy kingdom. %%% N'agamba nti Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu bwakabaka bwo. 42LUK023.043 And Jesus said unto him, Verily I say unto thee, To day shalt thou be with me in paradise. %%% Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda. 42LUK023.044 And it was about the sixth hour, and there was a darkness over all the earth until the ninth hour. %%% Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa essaawa mwenda, 42LUK023.045 And the sun was darkened, and the veil of the temple was rent in the midst. %%% enjuba obutayaka: n'eggigi ery'omu yeekaalu ne liyulikamu wakati. 42LUK023.046 And when Jesus had cried with a loud voice, he said, Father, into thy hands I commend my spirit: and having said thus, he gave up the ghost. %%% Awo Yesu n’ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu. 42LUK023.047 Now when the centurion saw what was done, he glorified God, saying, Certainly this was a righteous man. %%% Awo omwami w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo, n'atendereza Katonda, ng'agamba nti Mazima ono abadde muntu mutuukirivu. 42LUK023.048 And all the people that came together to that sight, beholding the things which were done, smote their breasts, and returned. %%% N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo nga beekuba mu bifuba. 42LUK023.049 And all his acquaintance, and the women that followed him from Galilee, stood afar off, beholding these things. %%% Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo. 42LUK023.050 And, behold, there was a man named Joseph, a counsellor; and he was a good man, and a just: %%% Kale laba, omuntu erinnya lye Yusufu, eyali omukungu, omuntu omulungi era omutuukirivu 42LUK023.051 (The same had not consented to the counsel and deed of them;) he was of Arimathaea, a city of the Jews: who also himself waited for the kingdom of God. %%% oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, ow'e Alimasaya, ekibuga ky'Abayudaaya, eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda: 42LUK023.052 This man went unto Pilate, and begged the body of Jesus. %%% oyo n'agenda ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. 42LUK023.053 And he took it down, and wrapped it in linen, and laid it in a sepulchre that was hewn in stone, wherein never man before was laid. %%% N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwa bafuta, n'amussa mu ntaana eyabajjibwa mu jjinja, omutateekebwanga muntu. 42LUK023.054 And that day was the preparation, and the sabbath drew on. %%% Kale lwali lunaku lwa Kuteekateeka, essabbiiti ng'eneebaako enkya. 42LUK023.055 And the women also, which came with him from Galilee, followed after, and beheld the sepulchre, and how his body was laid. %%% N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera, ne balaba entaana, n'omulambo gwe bwe gwateekebwa. 42LUK023.056 And they returned, and prepared spices and ointments; and rested the sabbath day according to the commandment. %%% Ne bakomawo, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omugavu. Ne ku lunaku olwa ssabbiiti ne bawummula ng'etteeka bwe liri. 42LUK024.001 Now upon the first day of the week, very early in the morning, they came unto the sepulchre, bringing the spices which they had prepared, and certain others with them. %%% Awo ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu, mu matulutulu enkya, ne bajja ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategeka. 42LUK024.002 And they found the stone rolled away from the sepulchre. %%% Ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa okuva ku ntaana. 42LUK024.003 And they entered in, and found not the body of the Lord Jesus. %%% Ne bayingiramu, ne batasanga mulambo gwa Mukama waffe Yesu. 42LUK024.004 And it came to pass, as they were much perplexed thereabout, behold, two men stood by them in shining garments: %%% Awo olwatuuka bwe baali basamaaliridde olw'ekyo, laba, abantu babiri ne bayimirira we baali, nga bambadde engoye ezimasamasa; 42LUK024.005 And as they were afraid, and bowed down their faces to the earth, they said unto them, Why seek ye the living among the dead? %%% awo bwe baali batidde, nga bakutamye amaaso gaabwe, ne babagamba nti Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu? 42LUK024.006 He is not here, but is risen: remember how he spake unto you when he was yet in Galilee, %%% Taliiwo wano, naye azuukidde: mujjukire bwe yayogera nammwe ng'akyali mu Ggaliraaya, 42LUK024.007 Saying, The Son of man must be delivered into the hands of sinful men, and be crucified, and the third day rise again. %%% ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibi, n'okukomererwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukira. 42LUK024.008 And they remembered his words, %%% Awo ne bajjukira ebigambo bye, 42LUK024.009 And returned from the sepulchre, and told all these things unto the eleven, and to all the rest. %%% ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n’omu, n'abalala bonna. 42LUK024.010 It was Mary Magdalene, and Joanna, and Mary the mother of James, and other women that were with them, which told these things unto the apostles. %%% Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala wamu nabo ne babuulira abatume ebigambo ebyo. 42LUK024.011 And their words seemed to them as idle tales, and they believed them not. %%% Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maaso gaabwe nga bya busirusiru; ne batakkiriza. 42LUK024.012 Then arose Peter, and ran unto the sepulchre; and stooping down, he beheld the linen clothes laid by themselves, and departed, wondering in himself at that which was come to pass. %%% Naye Peetero n'agolokoka n'addukana ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo. 42LUK024.013 And, behold, two of them went that same day to a village called Emmaus, which was from Jerusalem about threescore furlongs. %%% Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga. 42LUK024.014 And they talked together of all these things which had happened. %%% Ne banyumya bokka na bokka ebyo byonna ebibaddewo. 42LUK024.015 And it came to pass, that, while they communed together and reasoned, Jesus himself drew near, and went with them. %%% Awo olwatuuka baali nga banyumya nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n'abasemberera, n'agenda wamu nabo. 42LUK024.016 But their eyes were holden that they should not know him. %%% Naye amaaso gaabwe ne gazibwa baleme okumutegeera. 42LUK024.017 And he said unto them, What manner of communications are these that ye have one to another, as ye walk, and are sad? %%% N'abagamba nti Bigambo ki bye mubuuzaganya nga mutambula? Ne bayimirira nga bawootedde. 42LUK024.018 And the one of them, whose name was Cleopas, answering said unto him, Art thou only a stranger in Jerusalem, and hast not known the things which are come to pass there in these days? %%% Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino? 42LUK024.019 And he said unto them, What things? And they said unto him, Concerning Jesus of Nazareth, which was a prophet mighty in deed and word before God and all the people: %%% N'abagamba nti Bigambo ki? Ne bamugamba nti Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakoleranga ne bye yayogereranga mu maaso ga Katonda ne mu g'abantu bonna: 42LUK024.020 And how the chief priests and our rulers delivered him to be condemned to death, and have crucified him. %%% ne bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okumusalira omusango ogw'okumutta, ne bamukomerera. 42LUK024.021 But we trusted that it had been he which should have redeemed Israel: and beside all this, to day is the third day since these things were done. %%% Naye ffe twali tusuubira nti ye alinunula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo. 42LUK024.022 Yea, and certain women also of our company made us astonished, which were early at the sepulchre; %%% Era n'abakazi abamu ab'ewaffe batuwuniikirizza, abaakedde okugenda ku ntaana; 42LUK024.023 And when they found not his body, they came, saying, that they had also seen a vision of angels, which said that he was alive. %%% bwe bataasanze mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti balabye okwolesebwa kwa bamalayika abagambye nti mulamu. 42LUK024.024 And certain of them which were with us went to the sepulchre, and found it even so as the women had said: but him they saw not. %%% N'abamu ku abo abaabadde naffe bagenze ku ntaana, ne basanga bwe batyo ng'abakazi bwe bagambye, naye ne batamulaba. 42LUK024.025 Then he said unto them, O fools, and slow of heart to believe all that the prophets have spoken: %%% Kale ye n'abagamba nti Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga; 42LUK024.026 Ought not Christ to have suffered these things, and to enter into his glory? %%% tekyagwanira Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo, alyoke ayingire mu kitiibwa kye? 42LUK024.027 And beginning at Moses and all the prophets, he expounded unto them in all the scriptures the things concerning himself. %%% N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikirwa ye. 42LUK024.028 And they drew nigh unto the village, whither they went: and he made as though he would have gone further. %%% Ne basembera kumpi n'embuga gye baali bagenda: ye n'aba ng'abayisa okugenda mu maaso. 42LUK024.029 But they constrained him, saying, Abide with us: for it is toward evening, and the day is far spent. And he went in to tarry with them. %%% Ne bamuwaliriza nga bagamba nti Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano. N'ayingira okutuula nabo. 42LUK024.030 And it came to pass, as he sat at meat with them, he took bread, and blessed it, and brake, and gave to them. %%% Awo olwatuuka yali atudde nabo ku mmere, n'atoola omugaati n'agwebaza, n'agumenyamu n'abawa. 42LUK024.031 And their eyes were opened, and they knew him; and he vanished out of their sight. %%% Amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; n'abulirawo bo obutamulaba. 42LUK024.032 And they said one to another, Did not our heart burn within us, while he talked with us by the way, and while he opened to us the scriptures? %%% Ne beebuuzaganya nti Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa? 42LUK024.033 And they rose up the same hour, and returned to Jerusalem, and found the eleven gathered together, and them that were with them, %%% Ne bayimuka mu kiseera ekyo ne bakomawo e Yerusaalemi, ne basanga ekkumi n'omu, n'abo be baali nabo, nga bakuŋŋaanye 42LUK024.034 Saying, The Lord is risen indeed, and hath appeared to Simon. %%% nga bagamba nti Mazima Mukama waffe azuukidde era alabikidde Simooni. 42LUK024.035 And they told what things were done in the way, and how he was known of them in breaking of bread. %%% Nabo ne babannyonnyola biri eby'omu kkubo, ne bwe yategeerekese gye bali olw'okumenyamu omugaati. 42LUK024.036 And as they thus spake, Jesus himself stood in the midst of them, and saith unto them, Peace be unto you. %%% Awo baali nga bakyayogera ebyo, ye yennyini n'ayimirira wakati waabwe, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe. 42LUK024.037 But they were terrified and affrighted, and supposed that they had seen a spirit. %%% Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu. 42LUK024.038 And he said unto them, Why are ye troubled? and why do thoughts arise in your hearts? %%% N'abagamba nti Ekibeeraliikiriza kiki? N'okubuusabuusa kujjira ki mu mitima gyammwe? 42LUK024.039 Behold my hands and my feet, that it is I myself: handle me, and see; for a spirit hath not flesh and bones, as ye see me have. %%% Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo. 42LUK024.040 And when he had thus spoken, he shewed them his hands and his feet. %%% Bwe yamala okwogera ekyo, n'abalaga engalo ze n'ebigere. 42LUK024.041 And while they yet believed not for joy, and wondered, he said unto them, Have ye here any meat? %%% Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti Mulina ekiriibwa wano? 42LUK024.042 And they gave him a piece of a broiled fish, and of an honeycomb. %%% Ne bamuwa ekitundu eky'ekyennyanja ekyokye. 42LUK024.043 And he took it, and did eat before them. %%% N'akitoola n'akiriira mu maaso gaabwe. 42LUK024.044 And he said unto them, These are the words which I spake unto you, while I was yet with you, that all things must be fulfilled, which were written in the law of Moses, and in the prophets, and in the psalms, concerning me. %%% N'abagamba nti Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikirwa nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli. 42LUK024.045 Then opened he their understanding, that they might understand the scriptures, %%% N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa; 42LUK024.046 And said unto them, Thus it is written, and thus it behoved Christ to suffer, and to rise from the dead the third day: %%% n'abagamba nti Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olw'okusatu; 42LUK024.047 And that repentance and remission of sins should be preached in his name among all nations, beginning at Jerusalem. %%% era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggibwako ebibi mu linnya lye, okusooketa ku Yerusaalemi. 42LUK024.048 And ye are witnesses of these things. %%% Mmwe bajulirwa b'ebyo. 42LUK024.049 And, behold, I send the promise of my Father upon you: but tarry ye in the city of Jerusalem, until ye be endued with power from on high. %%% Era laba, mbaweereza mmwe okusuubiza kwa Kitange: naye mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava waggulu. 42LUK024.050 And he led them out as far as to Bethany, and he lifted up his hands, and blessed them. %%% N'abatwala ebweru n'abatuusa e Bessaniya: n'ayimusa emikono gye n'abawa omukisa. 42LUK024.051 And it came to pass, while he blessed them, he was parted from them, and carried up into heaven. %%% Awo olwatuuka ng'akyabawa omukisa, n'abaawukanako, n'atwalibwa mu ggulu. 42LUK024.052 And they worshipped him, and returned to Jerusalem with great joy: %%% Nabo ne bamusinza, ne bakomawo e Yerusaalemi n'essanyu lingi: 42LUK024.053 And were continually in the temple, praising and blessing God. Amen. %%% ne babeeranga mu yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda. 43JOH001.001 In the beginning was the Word, and the Word was with God, and the Word was God. %%% Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. 43JOH001.002 The same was in the beginning with God. %%% Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. 43JOH001.003 All things were made by him; and without him was not any thing made that was made. %%% Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa. 43JOH001.004 In him was life; and the life was the light of men. %%% Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu. 43JOH001.005 And the light shineth in darkness; and the darkness comprehended it not. %%% Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera. 43JOH001.006 There was a man sent from God, whose name was John. %%% Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana. 43JOH001.007 The same came for a witness, to bear witness of the Light, that all men through him might believe. %%% Oyo yajja olw'okutegeeza ategeeze eby'omusana, bonna bakkirize ku bubwe. 43JOH001.008 He was not that Light, but was sent to bear witness of that Light. %%% Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'omusana. 43JOH001.009 That was the true Light, which lighteth every man that cometh into the world. %%% Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi. 43JOH001.010 He was in the world, and the world was made by him, and the world knew him not. %%% Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera. 43JOH001.011 He came unto his own, and his own received him not. %%% Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza. 43JOH001.012 But as many as received him, to them gave he power to become the sons of God, even to them that believe on his name: %%% Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye: 43JOH001.013 Which were born, not of blood, nor of the will of the flesh, nor of the will of man, but of God. %%% abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda. 43JOH001.014 And the Word was made flesh, and dwelt among us, (and we beheld his glory, the glory as of the only begotten of the Father,) full of grace and truth. %%% Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima. 43JOH001.015 John bare witness of him, and cried, saying, This was he of whom I spake, He that cometh after me is preferred before me: for he was before me. %%% Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze. 43JOH001.016 And of his fulness have all we received, and grace for grace. %%% Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa. 43JOH001.017 For the law was given by Moses, but grace and truth came by Jesus Christ. %%% Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo. 43JOH001.018 No man hath seen God at any time; the only begotten Son, which is in the bosom of the Father, he hath declared him. %%% Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza. 43JOH001.019 And this is the record of John, when the Jews sent priests and Levites from Jerusalem to ask him, Who art thou? %%% Kuno kwe kutegeeza kwa Yokaana, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti Ggwe ani? 43JOH001.020 And he confessed, and denied not; but confessed, I am not the Christ. %%% N'ayatula, n'ateegaana; n'ayatula nti Si nze Kristo. 43JOH001.021 And they asked him, What then? Art thou Elias? And he saith, I am not. Art thou that prophet? And he answered, No. %%% Ne bamubuuza nti Kale lw'oli ani? oli Eriya? N'agamba nti Si nze ye. Ggwe nnabbi oli? N'addamu nti Nedda. 43JOH001.022 Then said they unto him, Who art thou? that we may give an answer to them that sent us. What sayest thou of thyself? %%% Awo ne bamugamba nti Lw'oli ani? tubaddemu abatutumye. Weeyita ani? 43JOH001.023 He said, I am the voice of one crying in the wilderness, Make straight the way of the Lord, as said the prophet Esaias. %%% N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera. 43JOH001.024 And they which were sent were of the Pharisees. %%% Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo. 43JOH001.025 And they asked him, and said unto him, Why baptizest thou then, if thou be not that Christ, nor Elias, neither that prophet? %%% Ne bamubuuza, ne bamugamba nti Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa? 43JOH001.026 John answered them, saying, I baptize with water: but there standeth one among you, whom ye know not; %%% Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti Nze mbatiza n'amazzi: wakati mu mmwe ayimiridde omuntu gwe mutamanyi, 43JOH001.027 He it is, who coming after me is preferred before me, whose shoe's latchet I am not worthy to unloose. %%% ajja ennyuma wange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye. 43JOH001.028 These things were done in Bethabara beyond Jordan, where John was baptizing. %%% Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga. 43JOH001.029 The next day John seeth Jesus coming unto him, and saith, Behold the Lamb of God, which taketh away the sin of the world. %%% Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi! 43JOH001.030 This is he of whom I said, After me cometh a man which is preferred before me: for he was before me. %%% oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze. 43JOH001.031 And I knew him not: but that he should be made manifest to Israel, therefore am I come baptizing with water. %%% Nange saamumanya: naye ayolesebwe Isiraeri, kyennava njija nga mbatiza n'amazzi. 43JOH001.032 And John bare record, saying, I saw the Spirit descending from heaven like a dove, and it abode upon him. %%% Yokaana n'ategeeza ng'agamba nti Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye. 43JOH001.033 And I knew him not: but he that sent me to baptize with water, the same said unto me, Upon whom thou shalt see the Spirit descending, and remaining on him, the same is he which baptizeth with the Holy Ghost. %%% Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu. 43JOH001.034 And I saw, and bare record that this is the Son of God. %%% Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda. 43JOH001.035 Again the next day after John stood, and two of his disciples; %%% Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'ab'oku bayigirizwa be babiri; 43JOH001.036 And looking upon Jesus as he walked, he saith, Behold the Lamb of God! %%% n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda! 43JOH001.037 And the two disciples heard him speak, and they followed Jesus. %%% Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu. 43JOH001.038 Then Jesus turned, and saw them following, and saith unto them, What seek ye? They said unto him, Rabbi, (which is to say, being interpreted, Master,) where dwellest thou? %%% Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi (amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza), osula wa? 43JOH001.039 He saith unto them, Come and see. They came and saw where he dwelt, and abode with him that day: for it was about the tenth hour. %%% N'abagamba nti Mujje, munaalabawo. Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi. 43JOH001.040 One of the two which heard John speak, and followed him, was Andrew, Simon Peter's brother. %%% Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera. 43JOH001.041 He first findeth his own brother Simon, and saith unto him, We have found the Messias, which is, being interpreted, the Christ. %%% Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwako amafuta. 43JOH001.042 And he brought him to Jesus. And when Jesus beheld him, he said, Thou art Simon the son of Jona: thou shalt be called Cephas, which is by interpretation, A stone. %%% N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, (amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero). 43JOH001.043 The day following Jesus would go forth into Galilee, and findeth Philip, and saith unto him, Follow me. %%% Olunaku olwaddako yayagala okuvaayo okugenda e Ggaliraaya, n'alaba Firipo: Yesu n'amugamba nti Ngoberera. 43JOH001.044 Now Philip was of Bethsaida, the city of Andrew and Peter. %%% Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero. 43JOH001.045 Philip findeth Nathanael, and saith unto him, We have found him, of whom Moses in the law, and the prophets, did write, Jesus of Nazareth, the son of Joseph. %%% Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi. 43JOH001.046 And Nathanael said unto him, Can there any good thing come out of Nazareth? Philip saith unto him, Come and see. %%% Nassanayiri n'amugamba nti Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi? Firipo n'amugamba nti Jjangu olabe. 43JOH001.047 Jesus saw Nathanael coming to him, and saith of him, Behold an Israelite indeed, in whom is no guile! %%% Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa! 43JOH001.048 Nathanael saith unto him, Whence knowest thou me? Jesus answered and said unto him, Before that Philip called thee, when thou wast under the fig tree, I saw thee. %%% Nassanayiri n'amugamba nti Wantegeerera wa? Yesu n'addamu n'amugamba nti Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba. 43JOH001.049 Nathanael answered and saith unto him, Rabbi, thou art the Son of God; thou art the King of Israel. %%% Nassanayiri n'amuddamu nti Labbi, ggwe Mwana wa Katonda: ggwe Kabaka wa Isiraeri. 43JOH001.050 Jesus answered and said unto him, Because I said unto thee, I saw thee under the fig tree, believest thou? thou shalt see greater things than these. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo. 43JOH001.051 And he saith unto him, Verily, verily, I say unto you, Hereafter ye shall see heaven open, and the angels of God ascending and descending upon the Son of man. %%% N'amugamba nti Ddala ddala mbagamba nti Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu. 43JOH002.001 And the third day there was a marriage in Cana of Galilee; and the mother of Jesus was there: %%% Olunaku olw'okusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo; 43JOH002.002 And both Jesus was called, and his disciples, to the marriage. %%% Yesu ne bamuyita n'abayigirizwa be ku mbaga. 43JOH002.003 And when they wanted wine, the mother of Jesus saith unto him, They have no wine. %%% Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti Tebalina nvinnyo. 43JOH002.004 Jesus saith unto her, Woman, what have I to do with thee? mine hour is not yet come. %%% Yesu n'amugamba nti Omukyala, Onvunaana ki? ekiseera kyange tekinnaba kutuuka. 43JOH002.005 His mother saith unto the servants, Whatsoever he saith unto you, do it. %%% Nnyina n'agamba abaweereza nti Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola. 43JOH002.006 And there were set there six waterpots of stone, after the manner of the purifying of the Jews, containing two or three firkins apiece. %%% Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukiiza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu. 43JOH002.007 Jesus saith unto them, Fill the waterpots with water. And they filled them up to the brim. %%% Yesu n'abagamba nti Amasuwa mugajjuze amazzi. Ne bagajjuza okutuusa ku migo. 43JOH002.008 And he saith unto them, Draw out now, and bear unto the governor of the feast. And they bare it. %%% N'abagamba nti Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga. Ne bamutwalira. 43JOH002.009 When the ruler of the feast had tasted the water that was made wine, and knew not whence it was: (but the servants which drew the water knew;) the governor of the feast called the bridegroom, %%% Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole, 43JOH002.010 And saith unto him, Every man at the beginning doth set forth good wine; and when men have well drunk, then that which is worse: but thou hast kept the good wine until now. %%% n'amugamba nti Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano. 43JOH002.011 This beginning of miracles did Jesus in Cana of Galilee, and manifested forth his glory; and his disciples believed on him. %%% Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza. 43JOH002.012 After this he went down to Capernaum, he, and his mother, and his brethren, and his disciples: and they continued there not many days. %%% Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be: ne bamalayo ennaku si nnyingi. 43JOH002.013 And the Jews' passover was at hand, and Jesus went up to Jerusalem, %%% Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yelusaalemi. 43JOH002.014 And found in the temple those that sold oxen and sheep and doves, and the changers of money sitting: %%% N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde: 43JOH002.015 And when he had made a scourge of small cords, he drove them all out of the temple, and the sheep, and the oxen; and poured out the changers' money, and overthrew the tables; %%% n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe; 43JOH002.016 And said unto them that sold doves, Take these things hence; make not my Father's house an house of merchandise. %%% n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi. 43JOH002.017 And his disciples remembered that it was written, The zeal of thine house hath eaten me up. %%% Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya. 43JOH002.018 Then answered the Jews and said unto him, What sign shewest thou unto us, seeing that thou doest these things? %%% Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Kabonero ki k'otwolesa akakukoza bino? 43JOH002.019 Jesus answered and said unto them, Destroy this temple, and in three days I will raise it up. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Mumenye yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu. 43JOH002.020 Then said the Jews, Forty and six years was this temple in building, and wilt thou rear it up in three days? %%% Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu? 43JOH002.021 But he spake of the temple of his body. %%% Naye yayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe. 43JOH002.022 When therefore he was risen from the dead, his disciples remembered that he had said this unto them; and they believed the scripture, and the word which Jesus had said. %%% Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera. 43JOH002.023 Now when he was in Jerusalem at the passover, in the feast day, many believed in his name, when they saw the miracles which he did. %%% Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe bwe yakola. 43JOH002.024 But Jesus did not commit himself unto them, because he knew all men, %%% Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna, 43JOH002.025 And needed not that any should testify of man: for he knew what was in man. %%% era teyeetaaga muntu yenna okutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu. 43JOH003.001 There was a man of the Pharisees, named Nicodemus, a ruler of the Jews: %%% Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, mwami mu Bayudaaya: 43JOH003.002 The same came to Jesus by night, and said unto him, Rabbi, we know that thou art a teacher come from God: for no man can do these miracles that thou doest, except God be with him. %%% oyo n'ajja gy'ali ekiro, n'amugamba nti Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula Katonda ng'ali naye. 43JOH003.003 Jesus answered and said unto him, Verily, verily, I say unto thee, Except a man be born again, he cannot see the kingdom of God. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda. 43JOH003.004 Nicodemus saith unto him, How can a man be born when he is old? can he enter the second time into his mother's womb, and be born? %%% Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa? 43JOH003.005 Jesus answered, Verily, verily, I say unto thee, Except a man be born of water and of the Spirit, he cannot enter into the kingdom of God. %%% Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 43JOH003.006 That which is born of the flesh is flesh; and that which is born of the Spirit is spirit. %%% Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. 43JOH003.007 Marvel not that I said unto thee, Ye must be born again. %%% Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri. 43JOH003.008 The wind bloweth where it listeth, and thou hearest the sound thereof, but canst not tell whence it cometh, and whither it goeth: so is every one that is born of the Spirit. %%% Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda: bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo. 43JOH003.009 Nicodemus answered and said unto him, How can these things be? %%% Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti Ebyo biyinza bitya okubaawo? 43JOH003.010 Jesus answered and said unto him, Art thou a master of Israel, and knowest not these things? %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo? 43JOH003.011 Verily, verily, I say unto thee, We speak that we do know, and testify that we have seen; and ye receive not our witness. %%% Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe. 43JOH003.012 If I have told you earthly things, and ye believe not, how shall ye believe, if I tell you of heavenly things? %%% Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu? 43JOH003.013 And no man hath ascended up to heaven, but he that came down from heaven, even the Son of man which is in heaven. %%% Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu ali mu ggulu. 43JOH003.014 And as Moses lifted up the serpent in the wilderness, even so must the Son of man be lifted up: %%% Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa: 43JOH003.015 That whosoever believeth in him should not perish, but have eternal life. %%% buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye. 43JOH003.016 For God so loved the world, that he gave his only begotten Son, that whosoever believeth in him should not perish, but have everlasting life. %%% Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. 43JOH003.017 For God sent not his Son into the world to condemn the world; but that the world through him might be saved. %%% Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. 43JOH003.018 He that believeth on him is not condemned: but he that believeth not is condemned already, because he hath not believed in the name of the only begotten Son of God. %%% Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda. 43JOH003.019 And this is the condemnation, that light is come into the world, and men loved darkness rather than light, because their deeds were evil. %%% Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. 43JOH003.020 For every one that doeth evil hateth the light, neither cometh to the light, lest his deeds should be reproved. %%% Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa. 43JOH003.021 But he that doeth truth cometh to the light, that his deeds may be made manifest, that they are wrought in God. %%% Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda. 43JOH003.022 After these things came Jesus and his disciples into the land of Judaea; and there he tarried with them, and baptized. %%% Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu nsi y'e Buyudaaya; n'alwayo nabo, n'abatiza. 43JOH003.023 And John also was baptizing in Aenon near to Salim, because there was much water there: and they came, and were baptized. %%% Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi: ne bajjanga, ne babatizibwanga. 43JOH003.024 For John was not yet cast into prison. %%% Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera. 43JOH003.025 Then there arose a question between some of John's disciples and the Jews about purifying. %%% Abayigirizwa ba Yokaana n'Omuyudaaya ne baba n'empaka, mu bigambo eby'okutukuza. 43JOH003.026 And they came unto John, and said unto him, Rabbi, he that was with thee beyond Jordan, to whom thou barest witness, behold, the same baptizeth, and all men come to him. %%% Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti Labbi, oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bajja gy'ali. 43JOH003.027 John answered and said, A man can receive nothing, except it be given him from heaven. %%% Yokaana n'addamu n'agamba nti Omuntu tayinza kuganya kigambo kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu. 43JOH003.028 Ye yourselves bear me witness, that I said, I am not the Christ, but that I am sent before him. %%% Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera. 43JOH003.029 He that hath the bride is the bridegroom: but the friend of the bridegroom, which standeth and heareth him, rejoiceth greatly because of the bridegroom's voice: this my joy therefore is fulfilled. %%% Alina omugole ye awasa: naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza: kale essanyu lyange eryo lituukiridde. 43JOH003.030 He must increase, but I must decrease. %%% Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala. 43JOH003.031 He that cometh from above is above all: he that is of the earth is earthly, and speaketh of the earth: he that cometh from heaven is above all. %%% Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi: ava mu ggulu ye afuga byonna. 43JOH003.032 And what he hath seen and heard, that he testifieth; and no man receiveth his testimony. %%% Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. 43JOH003.033 He that hath received his testimony hath set to his seal that God is true. %%% Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima. 43JOH003.034 For he whom God hath sent speaketh the words of God: for God giveth not the Spirit by measure unto him. %%% Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda: kubanga, bw'agaba Omwoyo, tamugera. 43JOH003.035 The Father loveth the Son, and hath given all things into his hand. %%% Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe. 43JOH003.036 He that believeth on the Son hath everlasting life: and he that believeth not the Son shall not see life; but the wrath of God abideth on him. %%% Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye. 43JOH004.001 When therefore the LORD knew how the Pharisees had heard that Jesus made and baptized more disciples than John, %%% Awo Mukama waffe bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti Yesu ayigiriza era nti abatiza bangi okukira Yokaana, 43JOH004.002 (Though Jesus himself baptized not, but his disciples,) %%% (naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula abayigirizwa be), 43JOH004.003 He left Judaea, and departed again into Galilee. %%% n'ava mu Buyudaaya, n'agenda e Ggaliraaya nate. 43JOH004.004 And he must needs go through Samaria. %%% Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya. 43JOH004.005 Then cometh he to a city of Samaria, which is called Sychar, near to the parcel of ground that Jacob gave to his son Joseph. %%% Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya, kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu: 43JOH004.006 Now Jacob's well was there. Jesus therefore, being wearied with his journey, sat thus on the well: and it was about the sixth hour. %%% era mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n'amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga. 43JOH004.007 There cometh a woman of Samaria to draw water: Jesus saith unto her, Give me to drink. %%% Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi: Yesu n'amugamba nti Mpa nnywe. 43JOH004.008 (For his disciples were gone away unto the city to buy meat.) %%% Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere. 43JOH004.009 Then saith the woman of Samaria unto him, How is it that thou, being a Jew, askest drink of me, which am a woman of Samaria? for the Jews have no dealings with the Samaritans. %%% Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze omukazi Omusamaliya? (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.) 43JOH004.010 Jesus answered and said unto her, If thou knewest the gift of God, and who it is that saith to thee, Give me to drink; thou wouldest have asked of him, and he would have given thee living water. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu. 43JOH004.011 The woman saith unto him, Sir, thou hast nothing to draw with, and the well is deep: from whence then hast thou that living water? %%% Omukazi n'amugamba nti Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu: kale oggya wa amazzi ago amalamu? 43JOH004.012 Art thou greater than our father Jacob, which gave us the well, and drank thereof himself, and his children, and his cattle? %%% Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze? 43JOH004.013 Jesus answered and said unto her, Whosoever drinketh of this water shall thirst again: %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate: 43JOH004.014 But whosoever drinketh of the water that I shall give him shall never thirst; but the water that I shall give him shall be in him a well of water springing up into everlasting life. %%% naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 43JOH004.015 The woman saith unto him, Sir, give me this water, that I thirst not, neither come hither to draw. %%% Omukazi n'amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga. 43JOH004.016 Jesus saith unto her, Go, call thy husband, and come hither. %%% Yesu n'amugamba nti Genda oyite balo, okomewo wano. 43JOH004.017 The woman answered and said, I have no husband. Jesus said unto her, Thou hast well said, I have no husband: %%% Omukazi n'addamu n'amugamba nti Sirina baze. Yesu n'amugamba nti Oyogedde bulungi nti Sirina baze; 43JOH004.018 For thou hast had five husbands; and he whom thou now hast is not thy husband: in that saidst thou truly. %%% kubanga walina babalo bataano, naye gw'olina kaakano si balo: ekyo ky'oyogedde mazima. 43JOH004.019 The woman saith unto him, Sir, I perceive that thou art a prophet. %%% Omukazi n'amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabbi. 43JOH004.020 Our fathers worshipped in this mountain; and ye say, that in Jerusalem is the place where men ought to worship. %%% Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu. 43JOH004.021 Jesus saith unto her, Woman, believe me, the hour cometh, when ye shall neither in this mountain, nor yet at Jerusalem, worship the Father. %%% Yesu n'amugamba nti Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi. 43JOH004.022 Ye worship ye know not what: we know what we worship: for salvation is of the Jews. %%% Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 43JOH004.023 But the hour cometh, and now is, when the true worshippers shall worship the Father in spirit and in truth: for the Father seeketh such to worship him. %%% Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga. 43JOH004.024 God is a Spirit: and they that worship him must worship him in spirit and in truth. %%% Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima. 43JOH004.025 The woman saith unto him, I know that Messias cometh, which is called Christ: when he is come, he will tell us all things. %%% Omukazi n'amugamba nti Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta): ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna. 43JOH004.026 Jesus saith unto her, I that speak unto thee am he. %%% Yesu n'amugamba nti Nze nzuuno ayogera naawe. 43JOH004.027 And upon this came his disciples, and marvelled that he talked with the woman: yet no man said, What seekest thou? or, Why talkest thou with her? %%% Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi : naye tewali muntu eyagamba nti Onoonya ki? oba nti Kiki ekikwogeza naye? 43JOH004.028 The woman then left her waterpot, and went her way into the city, and saith to the men, %%% Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abantu nti 43JOH004.029 Come, see a man, which told me all things that ever I did: is not this the Christ? %%% Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna: ayinza okuba nga ye Kristo? 43JOH004.030 Then they went out of the city, and came unto him. %%% Ne bava mu kibuga, ne bajja gy'ali. 43JOH004.031 In the mean while his disciples prayed him, saying, Master, eat. %%% Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti Labbi, lya. 43JOH004.032 But he said unto them, I have meat to eat that ye know not of. %%% Naye n'abagamba nti Nnina ekyokulya kye ndya kye mutamanyi. 43JOH004.033 Therefore said the disciples one to another, Hath any man brought him ought to eat? %%% Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya? 43JOH004.034 Jesus saith unto them, My meat is to do the will of him that sent me, and to finish his work. %%% Yesu n'abagamba nti Ekyokulya kyange, kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe. 43JOH004.035 Say not ye, There are yet four months, and then cometh harvest? behold, I say unto you, Lift up your eyes, and look on the fields; for they are white already to harvest. %%% Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa. 43JOH004.036 And he that reapeth receiveth wages, and gathereth fruit unto life eternal: that both he that soweth and he that reapeth may rejoice together. %%% Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu. 43JOH004.037 And herein is that saying true, One soweth, and another reapeth. %%% Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti Asiga mulala, n'akungula mulala. 43JOH004.038 I sent you to reap that whereon ye bestowed no labour: other men laboured, and ye are entered into their labours. %%% Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera: abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe. 43JOH004.039 And many of the Samaritans of that city believed on him for the saying of the woman, which testified, He told me all that ever I did. %%% Ab'omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna. 43JOH004.040 So when the Samaritans were come unto him, they besought him that he would tarry with them: and he abode there two days. %%% Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo: n'asulayo ennaku bbiri. 43JOH004.041 And many more believed because of his own word; %%% Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye, 43JOH004.042 And said unto the woman, Now we believe, not because of thy saying: for we have heard him ourselves, and know that this is indeed the Christ, the Saviour of the world. %%% ne bagamba omukazi nti Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi. 43JOH004.043 Now after two days he departed thence, and went into Galilee. %%% Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya. 43JOH004.044 For Jesus himself testified, that a prophet hath no honour in his own country. %%% Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa. 43JOH004.045 Then when he was come into Galilee, the Galilaeans received him, having seen all the things that he did at Jerusalem at the feast: for they also went unto the feast. %%% Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga: kubanga nabo baagenda ku mbaga. 43JOH004.046 So Jesus came again into Cana of Galilee, where he made the water wine. And there was a certain nobleman, whose son was sick at Capernaum. %%% Awo n'ajja nate ku Kaana eky'e Ggaliraaya, mwe yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu. 43JOH004.047 When he heard that Jesus was come out of Judaea into Galilee, he went unto him, and besought him that he would come down, and heal his son: for he was at the point of death. %%% Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa. 43JOH004.048 Then said Jesus unto him, Except ye see signs and wonders, ye will not believe. %%% Awo Yesu n'amugamba nti Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono. 43JOH004.049 The nobleman saith unto him, Sir, come down ere my child die. %%% Omukungu n'amugamba nti Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa. 43JOH004.050 Jesus saith unto him, vGo thy way; thy son liveth. And the man believed the word that Jesus had spoken unto him, and he went his way. %%% Yesu n'amugamba nti Genda; omwana wo mulamu. Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda. 43JOH004.051 And as he was now going down, his servants met him, and told him, saying, Thy son liveth. %%% Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti omwana we mulamu. 43JOH004.052 Then enquired he of them the hour when he began to amend. And they said unto him, Yesterday at the seventh hour the fever left him. %%% Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako. 43JOH004.053 So the father knew that it was at the same hour, in the which Jesus said unto him, Thy son liveth: and himself believed, and his whole house. %%% Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti Omwana wo mulamu: ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna. 43JOH004.054 This is again the second miracle that Jesus did, when he was come out of Judaea into Galilee. %%% Kano ke kabonero ak'okubiri nate Yesu ke yakola bwe yava e Buyudaaya okujja e Ggaliraaya. 43JOH005.001 After this there was a feast of the Jews; and Jesus went up to Jerusalem. %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka ku Yerusaalemi. 43JOH005.002 Now there is at Jerusalem by the sheep market a pool, which is called in the Hebrew tongue Bethesda, having five porches. %%% Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano. 43JOH005.003 In these lay a great multitude of impotent folk, of blind, halt, withered, waiting for the moving of the water. %%% Mu ebyo mwagalamirangamu ekibiina ky'abalwadde, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, nga balindirira amazzi okubimba: 43JOH005.004 For an angel went down at a certain season into the pool, and troubled the water: whosoever then first after the troubling of the water stepped in was made whole of whatsoever disease he had. %%% kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okugendamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe bwe yabanga nabwo. 43JOH005.005 And a certain man was there, which had an infirmity thirty and eight years. %%% Ne wabaawo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana. 43JOH005.006 When Jesus saw him lie, and knew that he had been now a long time in that case, he saith unto him, Wilt thou be made whole? %%% Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu? 43JOH005.007 The impotent man answered him, Sir, I have no man, when the water is troubled, to put me into the pool: but while I am coming, another steppeth down before me. %%% Omulwadde n'amuddamu nti Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera: nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu. 43JOH005.008 Jesus saith unto him, Rise, take up thy bed, and walk. %%% Yesu n'amugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule. 43JOH005.009 And immediately the man was made whole, and took up his bed, and walked: and on the same day was the sabbath. %%% Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti. 43JOH005.010 The Jews therefore said unto him that was cured, It is the sabbath day: it is not lawful for thee to carry thy bed. %%% Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti Leero ssabbiiti, muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo. 43JOH005.011 He answered them, He that made me whole, the same said unto me, Take up thy bed, and walk. %%% Naye n'abaddamu nti Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule. 43JOH005.012 Then asked they him, What man is that which said unto thee, Take up thy bed, and walk? %%% Ne bamubuuza nti Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti Weetikke otambule? 43JOH005.013 And he that was healed wist not who it was: for Jesus had conveyed himself away, a multitude being in that place. %%% Naye eyawonye nga tamanyi bw'ali: kubanga Yesu yali amaze okugenda, abantu abaali mu kifo kiri nga bangi. 43JOH005.014 Afterward Jesus findeth him in the temple, and said unto him, Behold, thou art made whole: sin no more, lest a worse thing come unto thee. %%% Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu yeekaalu, n'amugamba nti Laba, oli mulamu: toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako. 43JOH005.015 The man departed, and told the Jews that it was Jesus, which had made him whole. %%% Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamponya. 43JOH005.016 And therefore did the Jews persecute Jesus, and sought to slay him, because he had done these things on the sabbath day. %%% Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti. 43JOH005.017 But Jesus answered them, My Father worketh hitherto, and I work. %%% Naye Yesu n'abaddamu nti Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola. 43JOH005.018 Therefore the Jews sought the more to kill him, because he not only had broken the sabbath, but said also that God was his Father, making himself equal with God. %%% Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda. 43JOH005.019 Then answered Jesus and said unto them, Verily, verily, I say unto you, The Son can do nothing of himself, but what he seeth the Father do: for what things soever he doeth, these also doeth the Son likewise. %%% Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo. 43JOH005.020 For the Father loveth the Son, and sheweth him all things that himself doeth: and he will shew him greater works than these, that ye may marvel. %%% Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye. 43JOH005.021 For as the Father raiseth up the dead, and quickeneth them; even so the Son quickeneth whom he will. %%% Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa. 43JOH005.022 For the Father judgeth no man, but hath committed all judgment unto the Son: %%% Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna; 43JOH005.023 That all men should honour the Son, even as they honour the Father. He that honoureth not the Son honoureth not the Father which hath sent him. %%% bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma. 43JOH005.024 Verily, verily, I say unto you, He that heareth my word, and believeth on him that sent me, hath everlasting life, and shall not come into condemnation; but is passed from death unto life. %%% Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu. 43JOH005.025 Verily, verily, I say unto you, The hour is coming, and now is, when the dead shall hear the voice of the Son of God: and they that hear shall live. %%% Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katoada, n'abo abaliwulira baliba balamu. 43JOH005.026 For as the Father hath life in himself; so hath he given to the Son to have life in himself; %%% Kubanga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye; 43JOH005.027 And hath given him authority to execute judgment also, because he is the Son of man. %%% era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu. 43JOH005.028 Marvel not at this: for the hour is coming, in the which all that are in the graves shall hear his voice, %%% Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, 43JOH005.029 And shall come forth; they that have done good, unto the resurrection of life; and they that have done evil, unto the resurrection of damnation. %%% ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango. 43JOH005.030 I can of mine own self do nothing: as I hear, I judge: and my judgment is just; because I seek not mine own will, but the will of the Father which hath sent me. %%% Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala. 43JOH005.031 If I bear witness of myself, my witness is not true. %%% Bwe nneetegeeza ebyange nze, okutegeeza kwange si kwa mazima. 43JOH005.032 There is another that beareth witness of me; and I know that the witness which he witnesseth of me is true. %%% Waliwo omulala ategeeza ebyange; nange mmanyi nti ebyange by'ategeeza bya mazima. 43JOH005.033 Ye sent unto John, and he bare witness unto the truth. %%% Mmwe mwatumira Yokaana naye n'ategeeza amazima. 43JOH005.034 But I receive not testimony from man: but these things I say, that ye might be saved. %%% Naye okutegeeza kw'omuntu sikukkiriza nze: naye njogera ebyo mmwe mulokoke. 43JOH005.035 He was a burning and a shining light: and ye were willing for a season to rejoice in his light. %%% Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala ekiseera kitono okusanyukira okutangaala kwe. 43JOH005.036 But I have greater witness than that of John: for the works which the Father hath given me to finish, the same works that I do, bear witness of me, that the Father hath sent me. %%% Naye okutegeeza kwe nnina kwe kukulu okusinga okwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gitegeeza ebyange nga Kitange ye yantuma. 43JOH005.037 And the Father himself, which hath sent me, hath borne witness of me. Ye have neither heard his voice at any time, nor seen his shape. %%% Era Kitange eyantuma oyo ye yategeeza ebyange. Temwawulira ddoboozi lye n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye. 43JOH005.038 And ye have not his word abiding in you: for whom he hath sent, him ye believe not. %%% So temulina kigambo kye nga kibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza. 43JOH005.039 Search the scriptures; for in them ye think ye have eternal life: and they are they which testify of me. %%% Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange; 43JOH005.040 And ye will not come to me, that ye might have life. %%% era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu. 43JOH005.041 I receive not honour from men. %%% Siweebwa bantu kitiibwa. 43JOH005.042 But I know you, that ye have not the love of God in you. %%% Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu. 43JOH005.043 I am come in my Father's name, and ye receive me not: if another shall come in his own name, him ye will receive. %%% Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza. 43JOH005.044 How can ye believe, which receive honour one of another, and seek not the honour that cometh from God only? %%% Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka? 43JOH005.045 Do not think that I will accuse you to the Father: there is one that accuseth you, even Moses, in whom ye trust. %%% Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira. 43JOH005.046 For had ye believed Moses, ye would have believed me: for he wrote of me. %%% Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze. 43JOH005.047 But if ye believe not his writings, how shall ye believe my words? %%% Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange? 43JOH006.001 After these things Jesus went over the sea of Galilee, which is the sea of Tiberias. %%% Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala w'ennyanja ey'e Ggaliraaya ey'e Tiberiya. 43JOH006.002 And a great multitude followed him, because they saw his miracles which he did on them that were diseased. %%% Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde. 43JOH006.003 And Jesus went up into a mountain, and there he sat with his disciples. %%% Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be. 43JOH006.004 And the passover, a feast of the Jews, was nigh. %%% N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka. 43JOH006.005 When Jesus then lifted up his eyes, and saw a great company come unto him, he saith unto Philip, Whence shall we buy bread, that these may eat? %%% Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya? 43JOH006.006 And this he said to prove him: for he himself knew what he would do. %%% Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola. 43JOH006.007 Philip answered him, Two hundred pennyworth of bread is not sufficient for them, that every one of them may take a little. %%% Firipo n'amuddamu nti Emmere egulibwa dinaali ebikumi ebibiri teebabune, buli muntu okulyako akatono. 43JOH006.008 One of his disciples, Andrew, Simon Peter's brother, saith unto him, %%% Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti 43JOH006.009 There is a lad here, which hath five barley loaves, and two small fishes: but what are they among so many? %%% Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi? 43JOH006.010 And Jesus said, Make the men sit down. Now there was much grass in the place. So the men sat down, in number about five thousand. %%% Yesu n'agamba nti Mutuuze abantu. Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, omuwendo ng'enkumi ttaano. 43JOH006.011 And Jesus took the loaves; and when he had given thanks, he distributed to the disciples, and the disciples to them that were set down; and likewise of the fishes as much as they would. %%% Awo Yesu n'atoola emigaati; ne yeebaza; n'agabira bali abatudde; n'ebyennyanja bw'atyo nga bwe baayagala. 43JOH006.012 When they were filled, he said unto his disciples, Gather up the fragments that remain, that nothing be lost. %%% Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okubula ekintu. 43JOH006.013 Therefore they gathered them together, and filled twelve baskets with the fragments of the five barley loaves, which remained over and above unto them that had eaten. %%% Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa. 43JOH006.014 Then those men, when they had seen the miracle that Jesus did, said, This is of a truth that prophet that should come into the world. %%% Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi. 43JOH006.015 When Jesus therefore perceived that they would come and take him by force, to make him a king, he departed again into a mountain himself alone. %%% Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka. 43JOH006.016 And when even was now come, his disciples went down unto the sea, %%% Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja; 43JOH006.017 And entered into a ship, and went over the sea toward Capernaum. And it was now dark, and Jesus was not come to them. %%% ne basaabala mu lyato, baali bawunguka ennyanja okugenda e Kaperunawumu. N'obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 43JOH006.018 And the sea arose by reason of a great wind that blew. %%% Ennyanja n'esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta. 43JOH006.019 So when they had rowed about five and twenty or thirty furlongs, they see Jesus walking on the sea, and drawing nigh unto the ship: and they were afraid. %%% Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'amakumi abiri mu ttaano, oba makumi asatu, ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya. 43JOH006.020 But he saith unto them, It is I; be not afraid. %%% Naye n'abagamba nti Nze nzuuno, temutya. 43JOH006.021 Then they willingly received him into the ship: and immediately the ship was at the land whither they went. %%% Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda. 43JOH006.022 The day following, when the people which stood on the other side of the sea saw that there was none other boat there, save that one whereinto his disciples were entered, and that Jesus went not with his disciples into the boat, but that his disciples were gone away alone; %%% Olunaku olw'okubiri, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja bwe baalaba nga teriiyo lyato ddala, wabula erimu, era nga ne Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye abayigirizwa be nga bagenda bokka, 43JOH006.023 (Howbeit there came other boats from Tiberias nigh unto the place where they did eat bread, after that the Lord had given thanks:) %%% (naye amaato amalala gaava e Tiberiya nga gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza): 43JOH006.024 When the people therefore saw that Jesus was not there, neither his disciples, they also took shipping, and came to Capernaum, seeking for Jesus. %%% awo ekibiina bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu. 43JOH006.025 And when they had found him on the other side of the sea, they said unto him, Rabbi, when camest thou hither? %%% Bwe baamulabira emitala w'ennyanja ne bamugamba nti Labbi, ozze ddi wano? 43JOH006.026 Jesus answered them and said, Verily, verily, I say unto you, Ye seek me, not because ye saw the miracles, but because ye did eat of the loaves, and were filled. %%% Yesu n'abaddamu n'agamba nti Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta. 43JOH006.027 Labour not for the meat which perisheth, but for that meat which endureth unto everlasting life, which the Son of man shall give unto you: for him hath God the Father sealed. %%% Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga KitafFe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero. 43JOH006.028 Then said they unto him, What shall we do, that we might work the works of God? %%% Awo ne bamugamba nti Tugire tutya okukola emirimu gya Katonda? 43JOH006.029 Jesus answered and said unto them, This is the work of God, that ye believe on him whom he hath sent. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma. 43JOH006.030 They said therefore unto him, What sign shewest thou then, that we may see, and believe thee? what dost thou work? %%% Awo ne bamugamba nti Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? okola mulimu ki? 43JOH006.031 Our fathers did eat manna in the desert; as it is written, He gave them bread from heaven to eat. %%% Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu. 43JOH006.032 Then Jesus said unto them, Verily, verily, I say unto you, Moses gave you not that bread from heaven; but my Father giveth you the true bread from heaven. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu. 43JOH006.033 For the bread of God is he which cometh down from heaven, and giveth life unto the world. %%% Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu. 43JOH006.034 Then said they unto him, Lord, evermore give us this bread. %%% Awo ne bamugamba nti Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo. 43JOH006.035 And Jesus said unto them, I am the bread of life: he that cometh to me shall never hunger; and he that believeth on me shall never thirst. %%% Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono. 43JOH006.036 But I said unto you, That ye also have seen me, and believe not. %%% Naye n'abagamba nti mundabye, era temukkirizza. 43JOH006.037 All that the Father giveth me shall come to me; and him that cometh to me I will in no wise cast out. %%% Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi: ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono. 43JOH006.038 For I came down from heaven, not to do mine own will, but the will of him that sent me. %%% Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala. 43JOH006.039 And this is the Father's will which hath sent me, that of all which he hath given me I should lose nothing, but should raise it up again at the last day. %%% Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero. 43JOH006.040 And this is the will of him that sent me, that every one which seeth the Son, and believeth on him, may have everlasting life: and I will raise him up at the last day. %%% Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero. 43JOH006.041 The Jews then murmured at him, because he said, I am the bread which came down from heaven. %%% Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyira kubanga yagamba nti Nze mmere eyava mu ggulu. 43JOH006.042 And they said, Is not this Jesus, the son of Joseph, whose father and mother we know? how is it then that he saith, I came down from heaven? %%% Ne bagamba nti Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti Nnava mu ggulu? 43JOH006.043 Jesus therefore answered and said unto them, Murmur not among yourselves. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Temwemulugunya mwekka na mwekka. 43JOH006.044 No man can come to me, except the Father which hath sent me draw him: and I will raise him up at the last day. %%% Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. 43JOH006.045 It is written in the prophets, And they shall be all taught of God. Every man therefore that hath heard, and hath learned of the Father, cometh unto me. %%% Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi. 43JOH006.046 Not that any man hath seen the Father, save he which is of God, he hath seen the Father. %%% Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange. 43JOH006.047 Verily, verily, I say unto you, He that believeth on me hath everlasting life. %%% Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo. 43JOH006.048 I am that bread of life. %%% Nze mmere ey'obulamu. 43JOH006.049 Your fathers did eat manna in the wilderness, and are dead. %%% Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa. 43JOH006.050 This is the bread which cometh down from heaven, that a man may eat thereof, and not die. %%% Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa. 43JOH006.051 I am the living bread which came down from heaven: if any man eat of this bread, he shall live for ever: and the bread that I will give is my flesh, which I will give for the life of the world. %%% Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi. 43JOH006.052 The Jews therefore strove among themselves, saying, How can this man give us his flesh to eat? %%% Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya? 43JOH006.053 Then Jesus said unto them, Verily, verily, I say unto you, Except ye eat the flesh of the Son of man, and drink his blood, ye have no life in you. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. 43JOH006.054 Whoso eateth my flesh, and drinketh my blood, hath eternal life; and I will raise him up at the last day. %%% Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. 43JOH006.055 For my flesh is meat indeed, and my blood is drink indeed. %%% Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala, n'omusaayi gwange kye kyokunywa ddala. 43JOH006.056 He that eateth my flesh, and drinketh my blood, dwelleth in me, and I in him. %%% Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye. 43JOH006.057 As the living Father hath sent me, and I live by the Father: so he that eateth me, even he shall live by me. %%% Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange. 43JOH006.058 This is that bread which came down from heaven: not as your fathers did eat manna, and are dead: he that eateth of this bread shall live for ever. %%% Eno ye mmere eyava mu ggulu: si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe. 43JOH006.059 These things said he in the synagogue, as he taught in Capernaum. %%%9 Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu. 43JOH006.060 Many therefore of his disciples, when they had heard this, said, This is an hard saying; who can hear it? %%% Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza? 43JOH006.061 When Jesus knew in himself that his disciples murmured at it, he said unto them, Doth this offend you? %%% Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyira kino, n'abagamba nti Kino kibeesittaza? 43JOH006.062 What and if ye shall see the Son of man ascend up where he was before? %%% kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye? 43JOH006.063 It is the spirit that quickeneth; the flesh profiteth nothing: the words that I speak unto you, they are spirit, and they are life. %%% Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu. 43JOH006.064 But there are some of you that believe not. For Jesus knew from the beginning who they were that believed not, and who should betray him. %%% Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza. Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali. 43JOH006.065 And he said, Therefore said I unto you, that no man can come unto me, except it were given unto him of my Father. %%% N'agamba nti Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange. 43JOH006.066 From that time many of his disciples went back, and walked no more with him. %%% Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate. 43JOH006.067 Then said Jesus unto the twelve, Will ye also go away? %%% Awo Yesu n'agamba ekkumi n'ababiri nti Era nammwe mwagala okugenda? 43JOH006.068 Then Simon Peter answered him, Lord, to whom shall we go? thou hast the words of eternal life. %%% Simooni Peetero n'amuddamu nti Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo. 43JOH006.069 And we believe and are sure that thou art that Christ, the Son of the living God. %%% Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda. 43JOH006.070 Jesus answered them, Have not I chosen you twelve, and one of you is a devil? %%% Yesu n'abaddamu nti Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri, era omu ku mmwe ye setaani? 43JOH006.071 He spake of Judas Iscariot the son of Simon: for he it was that should betray him, being one of the twelve. %%% Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda kumulyamu olukwe, ye omu ku kkumi n'ababiri. 43JOH007.001 After these things Jesus walked in Galilee: for he would not walk in Jewry, because the Jews sought to kill him. %%% Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Ggaliraaya: kubanga teyayagala kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta. 43JOH007.002 Now the Jews' feast of tabernacles was at hand. %%% Naye embaga y'Abayudaaya yali enaatera okutuuka, ye y'ensiisira. 43JOH007.003 His brethren therefore said unto him, Depart hence, and go into Judaea, that thy disciples also may see the works that thou doest. %%% Awo baganda be ne bamugamba nti Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirirnu gyo gy'okola. 43JOH007.004 For there is no man that doeth any thing in secret, and he himself seeketh to be known openly. If thou do these things, shew thyself to the world. %%% Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama wabula nga naye yennyini ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi. 43JOH007.005 For neither did his brethren believe in him. %%% Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza. 43JOH007.006 Then Jesus said unto them, My time is not yet come: but your time is alway ready. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese. 43JOH007.007 The world cannot hate you; but me it hateth, because I testify of it, that the works thereof are evil. %%% Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi. 43JOH007.008 Go ye up unto this feast: I go not up yet unto this feast: for my time is not yet full come. %%% Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa. 43JOH007.009 When he had said these words unto them, he abode still in Galilee. %%% Bwe yamala okubagamba ebyo n'asigala e Ggaliraaya. 43JOH007.010 But when his brethren were gone up, then went he also up unto the feast, not openly, but as it were in secret. %%% Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si lwatu, naye nga mu kyama. 43JOH007.011 Then the Jews sought him at the feast, and said, Where is he? %%% Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, ne bagamba nti Ali ludda wa? 43JOH007.012 And there was much murmuring among the people concerning him: for some said, He is a good man: others said, Nay; but he deceiveth the people. %%% Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala ne bagamba ku ye nti Mulungi; abalala ne bagamba nti Nedda, naye akyamya ekibiina. 43JOH007.013 Howbeit no man spake openly of him for fear of the Jews. %%% Naye tewaali yamwogerako lwatu kubanga baatya Abayudaaya. 43JOH007.014 Now about the midst of the feast Jesus went up into the temple, and taught. %%% Awo mu mbaga wakati Yesu n'ayambuka ku yeekaalu, n'ayigiriza. 43JOH007.015 And the Jews marvelled, saying, How knoweth this man letters, having never learned? %%% Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako? 43JOH007.016 Jesus answered them, and said, My doctrine is not mine, but his that sent me. %%% Awo Yesu n'abaddamu n'agamba nti Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw'oli eyantuma. 43JOH007.017 If any man will do his will, he shall know of the doctrine, whether it be of God, or whether I speak of myself. %%% Omuntu bw'ayagala okukola oli by'ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange. 43JOH007.018 He that speaketh of himself seeketh his own glory: but he that seeketh his glory that sent him, the same is true, and no unrighteousness is in him. %%% Ayogera eby'amagezi ge, anoonya ekitiibwa kye ye: naye anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye. 43JOH007.019 Did not Moses give you the law, and yet none of you keepeth the law? Why go ye about to kill me? %%% Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita? 43JOH007.020 The people answered and said, Thou hast a devil: who goeth about to kill thee? %%% Ekibiina ne baddamu nti Oliko dayimooni: ani asala amagezi okukutta? 43JOH007.021 Jesus answered and said unto them, I have done one work, and ye all marvel. %%% Yesu n'addamu n'agamba nti Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna mwewuunya. 43JOH007.022 Moses therefore gave unto you circumcision; (not because it is of Moses, but of the fathers;) and ye on the sabbath day circumcise a man. %%% Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja); ne ku ssabbiiti mukomola omuntu. 43JOH007.023 If a man on the sabbath day receive circumcision, that the law of Moses should not be broken; are ye angry at me, because I have made a man every whit whole on the sabbath day? %%% Omuntu bw'akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okusoba; munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti? 43JOH007.024 Judge not according to the appearance, but judge righteous judgment. %%% Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga. 43JOH007.025 Then said some of them of Jerusalem, Is not this he, whom they seek to kill? %%% Awo abamu ab'omu Yerusaalemi ne bagamba nti Gwe banoonya okutta si ye wuuno? 43JOH007.026 But, lo, he speaketh boldly, and they say nothing unto him. Do the rulers know indeed that this is the very Christ? %%% Naye, laba, ayogera lwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng'ono ye Kristo? 43JOH007.027 Howbeit we know this man whence he is: but when Christ cometh, no man knoweth whence he is. %%% Naye ono tumanyi gy'ava: naye Kristo bw'ajja, tewali ategeera gy'ava. 43JOH007.028 Then cried Jesus in the temple as he taught, saying, Ye both know me, and ye know whence I am: and I am not come of myself, but he that sent me is true, whom ye know not. %%% Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe. 43JOH007.029 But I know him: for I am from him, and he hath sent me. %%% Nze mummanyi; kubanga nava gy'ali, era ye yantuma. 43JOH007.030 Then they sought to take him: but no man laid hands on him, because his hour was not yet come. %%% Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka. 43JOH007.031 And many of the people believed on him, and said, When Christ cometh, will he do more miracles than these which this man hath done? %%% Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola? 43JOH007.032 The Pharisees heard that the people murmured such things concerning him; and the Pharisees and the chief priests sent officers to take him. %%% Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata. 43JOH007.033 Then said Jesus unto them, Yet a little while am I with you, and then I go unto him that sent me. %%% Awo Yesu n'agamba nti Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma. 43JOH007.034 Ye shall seek me, and shall not find me: and where I am, thither ye cannot come. %%% Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo. 43JOH007.035 Then said the Jews among themselves, Whither will he go, that we shall not find him? will he go unto the dispersed among the Gentiles, and teach the Gentiles? %%% Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani? 43JOH007.036 What manner of saying is this that he said, Ye shall seek me, and shall not find me: and where I am, thither ye cannot come? %%% Kigambo ki ekyo ky'agamba nti Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo? 43JOH007.037 In the last day, that great day of the feast, Jesus stood and cried, saying, If any man thirst, let him come unto me, and drink. %%% Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. 43JOH007.038 He that believeth on me, as the scripture hath said, out of his belly shall flow rivers of living water. %%% Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe. 43JOH007.039 (But this spake he of the Spirit, which they that believe on him should receive: for the Holy Ghost was not yet given; because that Jesus was not yet glorified.) %%% Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa. 43JOH007.040 Many of the people therefore, when they heard this saying, said, Of a truth this is the Prophet. %%% Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti Mazima, ono ye nnabbi oli. 43JOH007.041 Others said, This is the Christ. But some said, Shall Christ come out of Galilee? %%% Abalala ne bagamba nti Ono ye Kristo. Naye abalala ne bagamba nti Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya? 43JOH007.042 Hath not the scripture said, That Christ cometh of the seed of David, and out of the town of Bethlehem, where David was? %%% Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali? 43JOH007.043 So there was a division among the people because of him. %%% Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe. 43JOH007.044 And some of them would have taken him; but no man laid hands on him. %%% Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono. 43JOH007.045 Then came the officers to the chief priests and Pharisees; and they said unto them, Why have ye not brought him? %%% Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti Ekibalobedde ki okumuleeta? 43JOH007.046 The officers answered, Never man spake like this man. %%% Abambowa ne baddamu nti Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo. 43JOH007.047 Then answered them the Pharisees, Are ye also deceived? %%% Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti Era nammwe abakyamizza? 43JOH007.048 Have any of the rulers or of the Pharisees believed on him? %%% Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo? 43JOH007.049 But this people who knoweth not the law are cursed. %%% Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa. 43JOH007.050 Nicodemus saith unto them, (he that came to Jesus by night, being one of them,) %%% Nikoodemo (ye yajja gy'ali edda, ye munnaabwe) n'abagamba nti 43JOH007.051 Doth our law judge any man, before it hear him, and know what he doeth? %%% Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze? 43JOH007.052 They answered and said unto him, Art thou also of Galilee? Search, and look: for out of Galilee ariseth no prophet. %%% Ne baddamu ne bamugamba nti Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya, 43JOH007.053 And every man went unto his own house. %%% Buli muntu n'addayo eka. 43JOH008.001 Jesus went unto the mount of Olives. %%% Naye Yesu n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 43JOH008.002 And early in the morning he came again into the temple, and all the people came unto him; and he sat down, and taught them. %%% N'akeera mu makya n'ajja nate mu yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy'ali; n'atuula, n'abayigiriza. 43JOH008.003 And the scribes and Pharisees brought unto him a woman taken in adultery; and when they had set her in the midst, %%% Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati, 43JOH008.004 They say unto him, Master, this woman was taken in adultery, in the very act. %%% ne bamugamba nti Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza. 43JOH008.005 Now Moses in the law commanded us, that such should be stoned: but what sayest thou? %%% Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo: kale ggwe oyogera otya ku ye? 43JOH008.006 This they said, tempting him, that they might have to accuse him. But Jesus stooped down, and with his finger wrote on the ground, as though he heard them not. %%% Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka. 43JOH008.007 So when they continued asking him, he lifted up himself, and said unto them, He that is without sin among you, let him first cast a stone at her. %%% Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja. 43JOH008.008 And again he stooped down, and wrote on the ground. %%% N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka. 43JOH008.009 And they which heard it, being convicted by their own conscience, went out one by one, beginning at the eldest, even unto the last: and Jesus was left alone, and the woman standing in the midst. %%% Nabo bwe baawulira ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero: Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati. 43JOH008.010 When Jesus had lifted up himself, and saw none but the woman, he said unto her, Woman, where are those thine accusers? hath no man condemned thee? %%% Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga? 43JOH008.011 She said, No man, Lord. And Jesus said unto her, Neither do I condemn thee: go, and sin no more. %%% Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri. 43JOH008.012 Then spake Jesus again unto them, saying, I am the light of the world: he that followeth me shall not walk in darkness, but shall have the light of life. %%% Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu. 43JOH008.013 The Pharisees therefore said unto him, Thou bearest record of thyself; thy record is not true. %%% Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa mazima. 43JOH008.014 Jesus answered and said unto them, Though I bear record of myself, yet my record is true: for I know whence I came, and whither I go; but ye cannot tell whence I come, and whither I go. %%% Yesu n'addamu n'abagamba nti Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda. 43JOH008.015 Ye judge after the flesh; I judge no man. %%% Mmwe musala omusango ng'omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango. 43JOH008.016 And yet if I judge, my judgment is true: for I am not alone, but I and the Father that sent me. %%% Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma. 43JOH008.017 It is also written in your law, that the testimony of two men is true. %%% Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw'abantu ababiri kwa mazima. 43JOH008.018 I am one that bear witness of myself, and the Father that sent me beareth witness of me. %%% Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange. 43JOH008.019 Then said they unto him, Where is thy Father? Jesus answered, Ye neither know me, nor my Father: if ye had known me, ye should have known my Father also. %%% Awo ne bamugamba nti Kitaawo ali ludda wa? Yesu n'addamu nti Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye. 43JOH008.020 These words spake Jesus in the treasury, as he taught in the temple: and no man laid hands on him; for his hour was not yet come. %%% Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu yeekaalu: so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka. 43JOH008.021 Then said Jesus again unto them, I go my way, and ye shall seek me, and shall die in your sins: whither I go, ye cannot come. %%% Awo n'abagamba nate nti Nze ŋŋenda, nammwe mulinnoonya, mulifiira mu kibi kyammwe: nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo. 43JOH008.022 Then said the Jews, Will he kill himself? because he saith, Whither I go, ye cannot come. %%% Awo Abayudaaya ne bagamba nti Anetta, kubanga agamba nti Nze gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo? 43JOH008.023 And he said unto them, Ye are from beneath; I am from above: ye are of this world; I am not of this world. %%% N'abagamba nti Mmwe muli ba wansi, nze ndi wa waggulu; mmwe muli ba mu nsi muno, nze siri wa mu nsi muno. 43JOH008.024 I said therefore unto you, that ye shall die in your sins: for if ye believe not that I am he, ye shall die in your sins. %%% Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe. 43JOH008.025 Then said they unto him, Who art thou? And Jesus saith unto them, Even the same that I said unto you from the beginning. %%% Awo ne bamugamba nti Ggwe ani? Yesu n'abagamba nti Nga bwe nnabagambanga okuva ku lubereberye. 43JOH008.026 I have many things to say and to judge of you: but he that sent me is true; and I speak to the world those things which I have heard of him. %%% Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi. 43JOH008.027 They understood not that he spake to them of the Father. %%% Tebaategeera ng'abagambye ku Kitaffe. 43JOH008.028 Then said Jesus unto them, When ye have lifted up the Son of man, then shall ye know that I am he, and that I do nothing of myself; but as my Father hath taught me, I speak these things. %%% Awo Yesu n'agamba nti Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuutu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo. 43JOH008.029 And he that sent me is with me: the Father hath not left me alone; for I do always those things that please him. %%% N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by'asiima. 43JOH008.030 As he spake these words, many believed on him. %%% Bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu bangi ne bamukkiriza. 43JOH008.031 Then said Jesus to those Jews which believed on him, If ye continue in my word, then are ye my disciples indeed; %%% Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; 43JOH008.032 And ye shall know the truth, and the truth shall make you free. %%% era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe. 43JOH008.033 They answered him, We be Abraham's seed, and were never in bondage to any man: how sayest thou, Ye shall be made free? %%% Ne bamuddamu nti Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna: oyogera otya ggwe nti Mulifuuka ba ddembe? 43JOH008.034 Jesus answered them, Verily, verily, I say unto you, Whosoever committeth sin is the servant of sin. %%% Yesu n'abaddamu nti Ddala ddala mbagamba nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w'ekibi. 43JOH008.035 And the servant abideth not in the house for ever: but the Son abideth ever. %%% Omuddu tabeerera mu nnyumba mirembe na mirembe: omwana abeerera emirembe n'emirembe. 43JOH008.036 If the Son therefore shall make you free, ye shall be free indeed. %%% Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala. 43JOH008.037 I know that ye are Abraham's seed; but ye seek to kill me, because my word hath no place in you. %%% Mmanyi nti muli zzadde lya Ibulayimu: naye musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange tekyeyabya mu mmwe. 43JOH008.038 I speak that which I have seen with my Father: and ye do that which ye have seen with your father. %%% Nze njogera bye nnalaba eri Kitange: kale nammwe mukola bye mwawulira eri kitammwe. 43JOH008.039 They answered and said unto him, Abraham is our father. Jesus saith unto them, If ye were Abraham's children, ye would do the works of Abraham. %%% Ne baddamu ne bamugamba nti Ibulayimu ye kitaffe. Yesu n'abagamba nti Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu. 43JOH008.040 But now ye seek to kill me, a man that hath told you the truth, which I have heard of God: this did not Abraham. %%% Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo. 43JOH008.041 Ye do the deeds of your father. Then said they to him, We be not born of fornication; we have one Father, even God. %%% Mmwe mukola emirimu gya kitammwe. Ne bamugamba nti Ffe tetuli baana beebolereze; tulina Kitaffe omu, ye Katonda. 43JOH008.042 Jesus said unto them, If God were your Father, ye would love me: for I proceeded forth and came from God; neither came I of myself, but he sent me. %%% Yesu n'abagamba nti Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde nze: kubanga nnava eri Katonda, ne njija, so sajja ku lwange nzekka, naye oyo ye yantuma. 43JOH008.043 Why do ye not understand my speech? even because ye cannot hear my word. %%% Kiki ekibalobedde okutegeera enjogera yange? Kubanga temuyinza kuwulira kigambo kyange. 43JOH008.044 Ye are of your father the devil, and the lusts of your father ye will do. He was a murderer from the beginning, and abode not in the truth, because there is no truth in him. When he speaketh a lie, he speaketh of his own: for he is a liar, and the father of it. %%% Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba. 43JOH008.045 And because I tell you the truth, ye believe me not. %%% Naye kubanga njogera amazima, temunzikiriza. 43JOH008.046 Which of you convinceth me of sin? And if I say the truth, why do ye not believe me? %%% Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima kiki ekibalobedde okunzikiriza? 43JOH008.047 He that is of God heareth God's words: ye therefore hear them not, because ye are not of God. %%% Owa Katonda awuiira ebigambo bya Katonda; mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda. 43JOH008.048 Then answered the Jews, and said unto him, Say we not well that thou art a Samaritan, and hast a devil? %%% Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Tetwogera bulungi ffe nti Ggwe oli Musamaliya, era oliko dayimooni? 43JOH008.049 Jesus answered, I have not a devil; but I honour my Father, and ye do dishonour me. %%% Yesu n'addamu nti Siriiko dayimooni; naye nze nzisaamu ekitiibwa Kitange, nammwe temunzisaamu kitiibwa. 43JOH008.050 And I seek not mine own glory: there is one that seeketh and judgeth. %%% Naye nze sinoonya kitiibwa kyange; w'ali anoonya era asala omusango. 43JOH008.051 Verily, verily, I say unto you, If a man keep my saying, he shall never see death. %%% Ddala ddala mbagamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange taliraba kufa emirembe n'emirembe. 43JOH008.052 Then said the Jews unto him, Now we know that thou hast a devil. Abraham is dead, and the prophets; and thou sayest, If a man keep my saying, he shall never taste of death. %%% Abayudaaya ne bamugamba nti Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe. 43JOH008.053 Art thou greater than our father Abraham, which is dead? and the prophets are dead: whom makest thou thyself? %%% Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? ne bannabbi baafa: weeyita ani? 43JOH008.054 Jesus answered, If I honour myself, my honour is nothing: it is my Father that honoureth me; of whom ye say, that he is your God: %%% Yesu n'addamu nti Bwe nneegulumiza nzekka, okugulumira kwange kuba kwa busa: angulumiza ye Kitange: mmwe gwe mwogerako nti ye Katonda wammwe: 43JOH008.055 Yet ye have not known him; but I know him: and if I should say, I know him not, I shall be a liar like unto you: but I know him, and keep his saying. %%% so temumutegeeranga: naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaafaanana nga mmwe, mulimba: naye mmumanyi, era nkwata ekigambo kye. 43JOH008.056 Your father Abraham rejoiced to see my day: and he saw it, and was glad. %%% Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange; n'alulaba n'asanyuka. 43JOH008.057 Then said the Jews unto him, Thou art not yet fifty years old, and hast thou seen Abraham? %%% Awo Abayudaaya ne bamugamba nti Tonnaba kuweza myaka makumi ataano, naye Ibulayimu wamulaba? 43JOH008.058 Jesus said unto them, Verily, verily, I say unto you, Before Abraham was, I am. %%% Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, Nze nga wendi. 43JOH008.059 Then took they up stones to cast at him: but Jesus hid himself, and went out of the temple, going through the midst of them, and so passed by. %%% Awo ne baddira amayinja okumukuba: naye Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu yeekaalu. 43JOH009.001 And as Jesus passed by, he saw a man which was blind from his birth. %%% Bwe yali ng'ayita, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 43JOH009.002 And his disciples asked him, saying, Master, who did sin, this man, or his parents, that he was born blind? %%% Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso? 43JOH009.003 Jesus answered, Neither hath this man sinned, nor his parents: but that the works of God should be made manifest in him. %%% Yesu n'addamu nti Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 43JOH009.004 I must work the works of him that sent me, while it is day: the night cometh, when no man can work. %%% Ffe kitugwanira okukola emirimu gy'oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw'atayinziza kukolera. 43JOH009.005 As long as I am in the world, I am the light of the world. %%% Bwe mba mu nsi, ndi musana gwa nsi. 43JOH009.006 When he had thus spoken, he spat on the ground, and made clay of the spittle, and he anointed the eyes of the blind man with the clay, %%% Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso, 43JOH009.007 And said unto him, Go, wash in the pool of Siloam, (which is by interpretation, Sent.) He went his way therefore, and washed, and came seeing. %%% n'amugamba nti Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu (okutegeezebwa kwakyo nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba. 43JOH009.008 The neighbours therefore, and they which before had seen him that he was blind, said, Is not this he that sat and begged? %%% Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza? 43JOH009.009 Some said, This is he: others said, He is like him: but he said, I am he. %%% Abalala ne bagamba nti Ye wuuyo: abalala ne bagamba nti Nedda, naye afaanana naye. Ye n'agamba nti Nze nzuuno. 43JOH009.010 Therefore said they unto him, How were thine eyes opened? %%% Awo ne bamugamba nti Kale amaaso go gaazibuka gatya? 43JOH009.011 He answered and said, A man that is called Jesus made clay, and anointed mine eyes, and said unto me, Go to the pool of Siloam, and wash: and I went and washed, and I received sight. %%% Ye n'addamu nti Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula. 43JOH009.012 Then said they unto him, Where is he? He said, I know not. %%% Ne bamugamba nti Ali ludda wa oyo? N'agamba nti Simanyi. 43JOH009.013 They brought to the Pharisees him that aforetime was blind. %%% Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli eyali edda omuzibe w'amaaso. 43JOH009.014 And it was the sabbath day when Jesus made the clay, and opened his eyes. %%% Naye lwali lwa ssabbiiti olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'amuzibula amaaso. 43JOH009.015 Then again the Pharisees also asked him how he had received his sight. He said unto them, He put clay upon mine eyes, and I washed, and do see. %%% Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula. 43JOH009.016 Therefore said some of the Pharisees, This man is not of God, because he keepeth not the sabbath day. Others said, How can a man that is a sinner do such miracles? And there was a division among them. %%% Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti. Naye abalala ne bagamba nti Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano? Ne wabaawo okwawukana mu bo. 43JOH009.017 They say unto the blind man again, What sayest thou of him, that he hath opened thine eyes? He said, He is a prophet. %%% Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso? Naye n'agamba nti Ye nnabbi. 43JOH009.018 But the Jews did not believe concerning him, that he had been blind, and received his sight, until they called the parents of him that had received his sight. %%% Kale Abayudaaya tebakkiriza bigambo bye, nga yali muzibe w'amaaso n'azibula, okutuusa lwe baamala okuyita abazadde b'eyazibula 43JOH009.019 And they asked them, saying, Is this your son, who ye say was born blind? how then doth he now see? %%% ne bababuuza nga bagamba nti Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya? 43JOH009.020 His parents answered them and said, We know that this is our son, and that he was born blind: %%% Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso: 43JOH009.021 But by what means he now seeth, we know not; or who hath opened his eyes, we know not: he is of age; ask him: he shall speak for himself. %%% naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka. 43JOH009.022 These words spake his parents, because they feared the Jews: for the Jews had agreed already, that if any man did confess that he was Christ, he should be put out of the synagogue. %%% Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okulagaana buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro. 43JOH009.023 Therefore said his parents, He is of age; ask him. %%% Abazadde be kyebaava boogera nti Musajja mukulu; mumubuuze ye. 43JOH009.024 Then again called they the man that was blind, and said unto him, Give God the praise: we know that this man is a sinner. %%% Awo ne bayita omulundi ogw'okubiri oli omuntu eyali omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti Gulumiza Katonda: ffe tumanyi ng'omuntu oyo alina ebibi. 43JOH009.025 He answered and said, Whether he be a sinner or no, I know not: one thing I know, that, whereas I was blind, now I see. %%% Ye n'addamu nti Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba. 43JOH009.026 Then said they to him again, What did he to thee? how opened he thine eyes? %%% Awo ne bamugamba nti Yakukola atya? yakuzibula atya amaaso go? 43JOH009.027 He answered them, I have told you already, and ye did not hear: wherefore would ye hear it again? will ye also be his disciples? %%% N'abaddamu nti Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogw'okubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be? 43JOH009.028 Then they reviled him, and said, Thou art his disciple; but we are Moses' disciples. %%% Ne bamuvuma, ne bagamba nti Ggwe oli muyigirizwa we: naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 43JOH009.029 We know that God spake unto Moses: as for this fellow, we know not from whence he is. %%% Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa: naye omuntu oyo tetumumanyi gy'ava. 43JOH009.030 The man answered and said unto them, Why herein is a marvellous thing, that ye know not from whence he is, and yet he hath opened mine eyes. %%% Omuntu n'addamu n'abagamba nti Kino kitalo! mmwe obutamanya gyava, omuntu eyasobola okunzibula amaaso! 43JOH009.031 Now we know that God heareth not sinners: but if any man be a worshipper of God, and doeth his will, him he heareth. %%% Tumanyi nga Katonda tawulira balina bibi; naye buli muntu atya Katonda, ng'akola ky'ayagala, oyo amuwulira. 43JOH009.032 Since the world began was it not heard that any man opened the eyes of one that was born blind. %%% Okuva edda n'edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 43JOH009.033 If this man were not of God, he could do nothing. %%% Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo. 43JOH009.034 They answered and said unto him, Thou wast altogether born in sins, and dost thou teach us? And they cast him out. %%% Ne baddamu ne bamugamba nti Ggwe wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe? Ne bamusindikira ebweru. 43JOH009.035 Jesus heard that they had cast him out; and when he had found him, he said unto him, Dost thou believe on the Son of God? %%% Yesu n'awulira nga bamusindikidde ebweru; n'amulaba n'agamba nti Ggwe okkiriza Omwana wa Katonda? 43JOH009.036 He answered and said, Who is he, Lord, that I might believe on him? %%% Ye n'addamu, n'agamba nti Mukama wange, ye ani, mmukkirize? 43JOH009.037 And Jesus said unto him, Thou hast both seen him, and it is he that talketh with thee. %%% Yesu n'amugamba nti Omulabye, era ayogera naawe ye wuuyo. 43JOH009.038 And he said, Lord, I believe. And he worshipped him. %%% Ye n'agamba nti Mukama wange, nzikirizza. N'amusinza. 43JOH009.039 And Jesus said, For judgment I am come into this world, that they which see not might see; and that they which see might be made blind. %%% Yesu n'agamba nti Omusango gwe gwandeeta mu nsi muno, abatalaba balabe, n'abo abalaba babe bazibe ba maaso. 43JOH009.040 And some of the Pharisees which were with him heard these words, and said unto him, Are we blind also? %%% Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti Naffe tuli bazibe ba maaso? 43JOH009.041 Jesus said unto them, If ye were blind, ye should have no sin: but now ye say, We see; therefore your sin remaineth. %%% Yesu n'abagamba nti Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo. 43JOH010.001 Verily, verily, I say unto you, He that entereth not by the door into the sheepfold, but climbeth up some other way, the same is a thief and a robber. %%% Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi. 43JOH010.002 But he that entereth in by the door is the shepherd of the sheep. %%% Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga. 43JOH010.003 To him the porter openeth; and the sheep hear his voice: and he calleth his own sheep by name, and leadeth them out. %%% Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: aziyita endiga ze amannya; azifulumya ebweru. 43JOH010.004 And when he putteth forth his own sheep, he goeth before them, and the sheep follow him: for they know his voice. %%% Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi. 43JOH010.005 And a stranger will they not follow, but will flee from him: for they know not the voice of strangers. %%% Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala. 43JOH010.006 This parable spake Jesus unto them: but they understood not what things they were which he spake unto them. %%% Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba. 43JOH010.007 Then said Jesus unto them again, Verily, verily, I say unto you, I am the door of the sheep. %%% Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga. 43JOH010.008 All that ever came before me are thieves and robbers: but the sheep did not hear them. %%% Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira. 43JOH010.009 I am the door: by me if any man enter in, he shall be saved, and shall go in and out, and find pasture. %%% Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro. 43JOH010.010 The thief cometh not, but for to steal, and to kill, and to destroy: I am come that they might have life, and that they might have it more abundantly. %%% Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. 43JOH010.011 I am the good shepherd: the good shepherd giveth his life for the sheep. %%% Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga. 43JOH010.012 But he that is an hireling, and not the shepherd, whose own the sheep are not, seeth the wolf coming, and leaveth the sheep, and fleeth: and the wolf catcheth them, and scattereth the sheep. %%% Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya. 43JOH010.013 The hireling fleeth, because he is an hireling, and careth not for the sheep. %%% Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo. 43JOH010.014 I am the good shepherd, and know my sheep, and am known of mine. %%% Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera 43JOH010.015 As the Father knoweth me, even so know I the Father: and I lay down my life for the sheep. %%% nga Kitange bw'antegeera, nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga. 43JOH010.016 And other sheep I have, which are not of this fold: them also I must bring, and they shall hear my voice; and there shall be one fold, and one shepherd. %%% Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu. 43JOH010.017 Therefore doth my Father love me, because I lay down my life, that I might take it again. %%% Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate. 43JOH010.018 No man taketh it from me, but I lay it down of myself. I have power to lay it down, and I have power to take it again. This commandment have I received of my Father. %%% Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange. 43JOH010.019 There was a division therefore again among the Jews for these sayings. %%% Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo. 43JOH010.020 And many of them said, He hath a devil, and is mad; why hear ye him? %%% Abamu ku bo bangi ne bagamba nti Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki? 43JOH010.021 Others said, These are not the words of him that hath a devil. Can a devil open the eyes of the blind? %%% Abalala ne bagamba nti Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe? 43JOH010.022 And it was at Jerusalem the feast of the dedication, and it was winter. %%% Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo; 43JOH010.023 And Jesus walked in the temple in Solomon's porch. %%% Yesu n'atambulira mu yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani. 43JOH010.024 Then came the Jews round about him, and said unto him, How long dost thou make us to doubt? If thou be the Christ, tell us plainly. %%% Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala. 43JOH010.025 Jesus answered them, I told you, and ye believed not: the works that I do in my Father's name, they bear witness of me. %%% Yesu n'abaddamu nti Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze. 43JOH010.026 But ye believe not, because ye are not of my sheep, as I said unto you. %%% Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 43JOH010.027 My sheep hear my voice, and I know them, and they follow me: %%% Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; 43JOH010.028 And I give unto them eternal life; and they shall never perish, neither shall any man pluck them out of my hand. %%% nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. 43JOH010.029 My Father, which gave them me, is greater than all; and no man is able to pluck them out of my Father's hand. %%% Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. 43JOH010.030 I and my Father are one. %%% Nze ne Kitange tuli omu. 43JOH010.031 Then the Jews took up stones again to stone him. %%% Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba. 43JOH010.032 Jesus answered them, Many good works have I shewed you from my Father; for which of those works do ye stone me? %%% Yesu n'abaddamu nti Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja? 43JOH010.033 The Jews answered him, saying, For a good work we stone thee not; but for blasphemy; and because that thou, being a man, makest thyself God. %%% Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda. 43JOH010.034 Jesus answered them, Is it not written in your law, I said, Ye are gods? %%% Yesu n'abaddamu nti Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda? 43JOH010.035 If he called them gods, unto whom the word of God came, and the scripture cannot be broken; %%% Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba), 43JOH010.036 Say ye of him, whom the Father hath sanctified, and sent into the world, Thou blasphemest; because I said, I am the Son of God? %%% mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n'amutuma mu nsi, nti Ovvodde; kubanga ŋŋambye nti Ndi Mwana wa Katonda? 43JOH010.037 If I do not the works of my Father, believe me not. %%% Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. 43JOH010.038 But if I do, though ye believe not me, believe the works: that ye may know, and believe, that the Father is in me, and I in him. %%% Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange. 43JOH010.039 Therefore they sought again to take him: but he escaped out of their hand, %%% Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe. 43JOH010.040 And went away again beyond Jordan into the place where John at first baptized; and there he abode. %%% N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo. 43JOH010.041 And many resorted unto him, and said, John did no miracle: but all things that John spake of this man were true. %%% Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bye yayogera ku ono byali bya mazima. 43JOH010.042 And many believed on him there. %%% Ne bamukkiririza eyo bangi. 43JOH011.001 Now a certain man was sick, named Lazarus, of Bethany, the town of Mary and her sister Martha. %%% Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali; 43JOH011.002 (It was that Mary which anointed the Lord with ointment, and wiped his feet with her hair, whose brother Lazarus was sick.) %%% Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde. 43JOH011.003 Therefore his sisters sent unto him, saying, Lord, behold, he whom thou lovest is sick. %%% Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde. 43JOH011.004 When Jesus heard that, he said, This sickness is not unto death, but for the glory of God, that the Son of God might be glorified thereby. %%% Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo. 43JOH011.005 Now Jesus loved Martha, and her sister, and Lazarus. %%% Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo. 43JOH011.006 When he had heard therefore that he was sick, he abode two days still in the same place where he was. %%% Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu. 43JOH011.007 Then after that saith he to his disciples, Let us go into Judaea again. %%% Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti Tuddeyo e Buyudaaya. Abayigirizwa ne bamugamba nti Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda? 43JOH011.008 His disciples say unto him, Master, the Jews of late sought to stone thee; and goest thou thither again? %%% Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda? 43JOH011.009 Jesus answered, Are there not twelve hours in the day? If any man walk in the day, he stumbleth not, because he seeth the light of this world. %%% Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno. 43JOH011.010 But if a man walk in the night, he stumbleth, because there is no light in him. %%% Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye. 43JOH011.011 These things said he: and after that he saith unto them, Our friend Lazarus sleepeth; but I go, that I may awake him out of sleep. %%% Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba ati Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa. 43JOH011.012 Then said his disciples, Lord, if he sleep, he shall do well. %%% Awo abayigirizwa ne bamugamba nti Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka. 43JOH011.013 Howbeit Jesus spake of his death: but they thought that he had spoken of taking of rest in sleep. %%% Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo. 43JOH011.014 Then said Jesus unto them plainly, Lazarus is dead. %%% Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti Lazaalo afudde. 43JOH011.015 And I am glad for your sakes that I was not there, to the intent ye may believe; nevertheless let us go unto him. %%% Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali. 43JOH011.016 Then said Thomas, which is called Didymus, unto his fellowdisciples, Let us also go, that we may die with him. %%% Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba bayigirizwa banne nti Naffe tugende tufiire wamu naye. 43JOH011.017 Then when Jesus came, he found that he had lain in the grave four days already. %%% Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 43JOH011.018 Now Bethany was nigh unto Jerusalem, about fifteen furlongs off: %%% Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano; 43JOH011.019 And many of the Jews came to Martha and Mary, to comfort them concerning their brother. %%% Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwa mwannyinaabwe. 43JOH011.020 Then Martha, as soon as she heard that Jesus was coming, went and met him: but Mary sat still in the house. %%% Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju. 43JOH011.021 Then said Martha unto Jesus, Lord, if thou hadst been here, my brother had not died. %%% Awo Maliza n'agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. 43JOH011.022 But I know, that even now, whatsoever thou wilt ask of God, God will give it thee. %%% Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa. 43JOH011.023 Jesus saith unto her, Thy brother shall rise again. %%% Yesu n'amugamba nti Mwannyoko ajja kuzuukira. 43JOH011.024 Martha saith unto him, I know that he shall rise again in the resurrection at the last day. %%% Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero. 43JOH011.025 Jesus said unto her, I am the resurrection, and the life: he that believeth in me, though he were dead, yet shall he live: %%% Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: 43JOH011.026 And whosoever liveth and believeth in me shall never die. Believest thou this? %%% Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: 43JOH011.027 She saith unto him, Yea, Lord: I believe that thou art the Christ, the Son of God, which should come into the world. %%% N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi. 43JOH011.028 And when she had so said, she went her way, and called Mary her sister secretly, saying, The Master is come, and calleth for thee. %%% Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita. 43JOH011.029 As soon as she heard that, she arose quickly, and came unto him. %%% Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali. 43JOH011.030 Now Jesus was not yet come into the town, but was in that place where Martha met him. %%% Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusangamu. 43JOH011.031 The Jews then which were with her in the house, and comforted her, when they saw Mary, that she rose up hastily and went out, followed her, saying, She goeth unto the grave to weep there. %%% Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo. 43JOH011.032 Then when Mary was come where Jesus was, and saw him, she fell down at his feet, saying unto him, Lord, if thou hadst been here, my brother had not died. %%% Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. 43JOH011.033 When Jesus therefore saw her weeping, and the Jews also weeping which came with her, he groaned in the spirit, and was troubled, %%% Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira, 43JOH011.034 And said, Where have ye laid him? They said unto him, Lord, come and see. %%% n'agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe. 43JOH011.035 Jesus wept. %%% Yesu n'akaaba amaziga. 43JOH011.036 Then said the Jews, Behold how he loved him! %%% Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw'abadde amwagala. 43JOH011.037 And some of them said, Could not this man, which opened the eyes of the blind, have caused that even this man should not have died? %%% Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa? 43JOH011.038 Jesus therefore again groaning in himself cometh to the grave. It was a cave, and a stone lay upon it. %%% Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu. 43JOH011.039 Jesus said, Take ye away the stone. Martha, the sister of him that was dead, saith unto him, Lord, by this time he stinketh: for he hath been dead four days. %%% Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya. 43JOH011.040 Jesus saith unto her, Said I not unto thee, that, if thou wouldest believe, thou shouldest see the glory of God? %%% Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda? 43JOH011.041 Then they took away the stone from the place where the dead was laid. And Jesus lifted up his eyes, and said, Father, I thank thee that thou hast heard me. %%% Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira. 43JOH011.042 And I knew that thou hearest me always: but because of the people which stand by I said it, that they may believe that thou hast sent me. %%% Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma. 43JOH011.043 And when he thus had spoken, he cried with a loud voice, Lazarus, come forth. %%% Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje. 43JOH011.044 And he that was dead came forth, bound hand and foot with graveclothes: and his face was bound about with a napkin. Jesus saith unto them, Loose him, and let him go. %%% Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende. 43JOH011.045 Then many of the Jews which came to Mary, and had seen the things which Jesus did, believed on him. %%% Awo bangi ab'omu Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza. 43JOH011.046 But some of them went their ways to the Pharisees, and told them what things Jesus had done. %%% Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze. 43JOH011.047 Then gathered the chief priests and the Pharisees a council, and said, What do we? for this man doeth many miracles. %%% Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi. 43JOH011.048 If we let him thus alone, all men will believe on him: and the Romans shall come and take away both our place and nation. %%% Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe. 43JOH011.049 And one of them, named Caiaphas, being the high priest that same year, said unto them, Ye know nothing at all, %%% Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti Mmwe temuliiko kye mumanyi, 43JOH011.050 Nor consider that it is expedient for us, that one man should die for the people, and that the whole nation perish not. %%% so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula. 43JOH011.051 And this spake he not of himself: but being high priest that year, he prophesied that Jesus should die for that nation; %%% Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo; 43JOH011.052 And not for that nation only, but that also he should gather together in one the children of God that were scattered abroad. %%% so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana. 43JOH011.053 Then from that day forth they took counsel together for to put him to death. %%% Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta. 43JOH011.054 Jesus therefore walked no more openly among the Jews; but went thence unto a country near to the wilderness, into a city called Ephraim, and there continued with his disciples. %%% Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa. 43JOH011.055 And the Jews' passover was nigh at hand: and many went out of the country up to Jerusalem before the passover, to purify themselves. %%% Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose. 43JOH011.056 Then sought they for Jesus, and spake among themselves, as they stood in the temple, What think ye, that he will not come to the feast? %%% Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga? 43JOH011.057 Now both the chief priests and the Pharisees had given a commandment, that, if any man knew where he were, he should shew it, that they might take him. %%% Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate. 43JOH012.001 Then Jesus six days before the passover came to Bethany, where Lazarus was, which had been dead, whom he raised from the dead. %%% Awo bwe zaali nga zisigaddeyo ennaku omukaaga okutuuka ku Kuyitako, Yesu n'ajja e Bessaniya, eyali Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza mu bafu. 43JOH012.002 There they made him a supper; and Martha served: but Lazarus was one of them that sat at the table with him. %%% Awo ne bamufumbirayo emmere ey'ekyeggulo: ne Maliza n'aweereza; naye Lazaalo n'aba omu ku bo abaali batudde naye ku mmere. 43JOH012.003 Then took Mary a pound of ointment of spikenard, very costly, and anointed the feet of Jesus, and wiped his feet with her hair: and the house was filled with the odour of the ointment. %%% Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta. 43JOH012.004 Then saith one of his disciples, Judas Iscariot, Simon's son, which should betray him, %%% Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa be, agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti 43JOH012.005 Why was not this ointment sold for three hundred pence, and given to the poor? %%% Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali ebikumi bisatu, okugabira abaavu? 43JOH012.006 This he said, not that he cared for the poor; but because he was a thief, and had the bag, and bare what was put therein. %%% Kale yayogera bw'atyo, si lwa kujjukira abaavu; naye kubanga yali mubbi, ye yayambaliranga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu. 43JOH012.007 Then said Jesus, Let her alone: against the day of my burying hath she kept this. %%% Awo Yesu n'agamba nti Mumuleke agaterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange. 43JOH012.008 For the poor always ye have with you; but me ye have not always. %%% Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna. 43JOH012.009 Much people of the Jews therefore knew that he was there: and they came not for Jesus' sake only, but that they might see Lazarus also, whom he had raised from the dead. %%% Awo abakopi ab'omu Bayudaaya ne bategeera nti gyali: ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu. 43JOH012.010 But the chief priests consulted that they might put Lazarus also to death; %%% Naye bakabona abakulu ne basala amagezi bamutte ne Lazaalo; 43JOH012.011 Because that by reason of him many of the Jews went away, and believed on Jesus. %%% kubanga ku lulwe bangi ku Bayudaaya abaagenda, ne bakkiriza Yesu. 43JOH012.012 On the next day much people that were come to the feast, when they heard that Jesus was coming to Jerusalem, %%% Olunaku olw'okubiri ekibiina kinene abaali bazze ku mbaga, bwe baawulira nga Yesu ajja e Yerusaalemi, 43JOH012.013 Took branches of palm trees, and went forth to meet him, and cried, Hosanna: Blessed is the King of Israel that cometh in the name of the Lord. %%% ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri. 43JOH012.014 And Jesus, when he had found a young ass, sat thereon; as it is written, %%% Naye Yesu bwe yalaba ennyana y'endogoyi, n'agyebereka; nga bwe kyawandiikibwa nti 43JOH012.015 Fear not, daughter of Sion: behold, thy King cometh, sitting on an ass's colt. %%% Totya, muwala wa Sayuuni: laba, Kabaka wo ajja, nga yeeberese omwana gw'endogoyi. 43JOH012.016 These things understood not his disciples at the first: but when Jesus was glorified, then remembered they that these things were written of him, and that they had done these things unto him. %%% Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo. 43JOH012.017 The people therefore that was with him when he called Lazarus out of his grave, and raised him from the dead, bare record. %%% Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne kitegeeza. 43JOH012.018 For this cause the people also met him, for that they heard that he had done this miracle. %%% Era ekibiina kyekyava kigenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola akabonero ako. 43JOH012.019 The Pharisees therefore said among themselves, Perceive ye how ye prevail nothing? behold, the world is gone after him. %%% Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze. 43JOH012.020 And there were certain Greeks among them that came up to worship at the feast: %%% Naye waaliwo Abayonaani abalala mu abo abajja ku mbaga okusinza: 43JOH012.021 The same came therefore to Philip, which was of Bethsaida of Galilee, and desired him, saying, Sir, we would see Jesus. %%% awo bali ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamubuuza, nga bamugamba nti Ssebo, twagala okulaba Yesu. 43JOH012.022 Philip cometh and telleth Andrew: and again Andrew and Philip tell Jesus. %%% Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu. 43JOH012.023 And Jesus answered them, saying, The hour is come, that the Son of man should be glorified. %%% Yesu n'abaddamu, n'agamba nti Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe. 43JOH012.024 Verily, verily, I say unto you, Except a corn of wheat fall into the ground and die, it abideth alone: but if it die, it bringeth forth much fruit. %%% Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi. 43JOH012.025 He that loveth his life shall lose it; and he that hateth his life in this world shall keep it unto life eternal. %%% Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 43JOH012.026 If any man serve me, let him follow me; and where I am, there shall also my servant be: if any man serve me, him will my Father honour. %%% Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabanga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa. 43JOH012.027 Now is my soul troubled; and what shall I say? Father, save me from this hour: but for this cause came I unto this hour. %%% Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunziya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino. 43JOH012.028 Father, glorify thy name. Then came there a voice from heaven, saying, I have both glorified it, and will glorify it again. %%% Kitange, gulumiza erinnya lyo. Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate: 43JOH012.029 The people therefore, that stood by, and heard it, said that it thundered: others said, An angel spake to him. %%% Awo ekibiina ekyali kiyimiridewo, bwe kyaliwulira, ne kigamba nti Kubadde kubwatuka: abalala ne bagamba nti Malayika ayogedde. 43JOH012.030 Jesus answered and said, This voice came not because of me, but for your sakes. %%% Yesu n'addamu n'agamba nti Eddoboozi lino terizze ku bwange, naye ku bwammwe. 43JOH012.031 Now is the judgment of this world: now shall the prince of this world be cast out. %%% Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w'ensi eno anaagoberwa ebweru. 43JOH012.032 And I, if I be lifted up from the earth, will draw all men unto me. %%% Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna. 43JOH012.033 This he said, signifying what death he should die. %%% Naye yayogera atyo, ng'alaga okufa bwe kuli kw'agenda okufa. 43JOH012.034 The people answered him, We have heard out of the law that Christ abideth for ever: and how sayest thou, The Son of man must be lifted up? who is this Son of man? %%% Awo ekibiina ne kimuddamu nti Tetwawulira mu mateeka nti Kristo abeerera awo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Ono Omwana w'omuntu ye ani? 43JOH012.035 Then Jesus said unto them, Yet a little while is the light with you. Walk while ye have the light, lest darkness come upon you: for he that walketh in darkness knoweth not whither he goeth. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda. 43JOH012.036 While ye have light, believe in the light, that ye may be the children of light. These things spake Jesus, and departed, and did hide himself from them. %%% Bwe mukyalina omusana mukkirize omusana, mufuuke abaana b'omusana. Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda, n'abeekweka. 43JOH012.037 But though he had done so many miracles before them, yet they believed not on him: %%% Naye newakubadde nga yakola obubonero bungi obwenkanidde awo mu maaso gaabwe, tebaamukkiriza: 43JOH012.038 That the saying of Esaias the prophet might be fulfilled, which he spake, Lord, who hath believed our report? and to whom hath the arm of the Lord been revealed? %%% ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe? Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani? 43JOH012.039 Therefore they could not believe, because that Esaias said again, %%% Kyebaava balema okuyinza okukkiriza, kubanga Isaaya yayogera nate nti 43JOH012.040 He hath blinded their eyes, and hardened their heart; that they should not see with their eyes, nor understand with their heart, and be converted, and I should heal them. %%% Yabaziba amaaso, n'abakakanyaza omutima; Baleme okulaba n'amaaso n'okutegeera n'omutima, Bakyuke, Ndyoke mbawonye. 43JOH012.041 These things said Esaias, when he saw his glory, and spake of him. %%% Ebyo bye yayogera Isaaya, kubanga yalaba ekitiibwa kye: n'ayogera ku ye. 43JOH012.042 Nevertheless among the chief rulers also many believed on him; but because of the Pharisees they did not confess him, lest they should be put out of the synagogue: %%% Naye mu bakulu bangi abaamukkiriza, naye olw'Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro: 43JOH012.043 For they loved the praise of men more than the praise of God. %%% kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okukira ekitiibwa kya Katonda. 43JOH012.044 Jesus cried and said, He that believeth on me, believeth not on me, but on him that sent me. %%% Yesu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma. 43JOH012.045 And he that seeth me seeth him that sent me. %%% Era alaba nze ng'alabye oli eyantuma. 43JOH012.046 I am come a light into the world, that whosoever believeth on me should not abide in darkness. %%% Nze nzize kuba musana mu nsi, buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu kizikiza. 43JOH012.047 And if any man hear my words, and believe not, I judge him not: for I came not to judge the world, but to save the world. %%% Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi. 43JOH012.048 He that rejecteth me, and receiveth not my words, hath one that judgeth him: the word that I have spoken, the same shall judge him in the last day. %%% Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero. 43JOH012.049 For I have not spoken of myself; but the Father which sent me, he gave me a commandment, what I should say, and what I should speak. %%% Kubanga saayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera. 43JOH012.050 And I know that his commandment is life everlasting: whatsoever I speak therefore, even as the Father said unto me, so I speak. %%% Nange mmanyi n'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe yaŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera. 43JOH013.001 Now before the feast of the passover, when Jesus knew that his hour was come that he should depart out of this world unto the Father, having loved his own which were in the world, he loved them unto the end. %%% Naye embaga ey'Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng'ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero. 43JOH013.002 And supper being ended, the devil having now put into the heart of Judas Iscariot, Simon's son, to betray him; %%% Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe, 43JOH013.003 Jesus knowing that the Father had given all things into his hands, and that he was come from God, and went to God; %%% Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda, 43JOH013.004 He riseth from supper, and laid aside his garments; and took a towel, and girded himself. %%% n'ava ku mmere, n'ayambulamu engoye ze; n'addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu. 43JOH013.005 After that he poureth water into a bason, and began to wash the disciples' feet, and to wipe them with the towel wherewith he was girded. %%% N'alyoka afuka amazzi mu kibya, n'atanula okunaaza abayigirizwa ebigere n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. 43JOH013.006 Then cometh he to Simon Peter: and Peter saith unto him, Lord, dost thou wash my feet? %%% Awo n'ajja eri Simooni Peetero. Naye n'amugamba nti Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere? 43JOH013.007 Jesus answered and said unto him, What I do thou knowest not now; but thou shalt know hereafter. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma. 43JOH013.008 Peter saith unto him, Thou shalt never wash my feet. Jesus answered him, If I wash thee not, thou hast no part with me. %%% Peetero n'amugamba nti Tonnaazenga bigere byange emirembe gyonna. Yesu n'amuddamu nti Bwe ssiikunaaze tossa kimu nange. 43JOH013.009 Simon Peter saith unto him, Lord, not my feet only, but also my hands and my head. %%% Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe. 43JOH013.010 Jesus saith to him, He that is washed needeth not save to wash his feet, but is clean every whit: and ye are clean, but not all. %%% Yesu n'amugamba nti Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna. 43JOH013.011 For he knew who should betray him; therefore said he, Ye are not all clean. %%% Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti Mwenna temuli balongoofu. 43JOH013.012 So after he had washed their feet, and had taken his garments, and was set down again, he said unto them, Know ye what I have done to you? %%% Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, n'ayambala engoye ze, n'atuula nate, n'abagamba nti Mutegedde kye mbakoze? 43JOH013.013 Ye call me Master and Lord: and ye say well; for so I am. %%% Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi. 43JOH013.014 If I then, your Lord and Master, have washed your feet; ye also ought to wash one another's feet. %%% Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere. 43JOH013.015 For I have given you an example, that ye should do as I have done to you. %%% Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo. 43JOH013.016 Verily, verily, I say unto you, The servant is not greater than his lord; neither he that is sent greater than he that sent him. %%% Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasinga bukulu oli eyamutuma. 43JOH013.017 If ye know these things, happy are ye if ye do them. %%% Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola. 43JOH013.018 I speak not of you all: I know whom I have chosen: but that the scripture may be fulfilled, He that eateth bread with me hath lifted up his heel against me. %%% Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye. 43JOH013.019 Now I tell you before it come, that, when it is come to pass, ye may believe that I am he. %%% Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo. 43JOH013.020 Verily, verily, I say unto you, He that receiveth whomsoever I send receiveth me; and he that receiveth me receiveth him that sent me. %%% Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze, ng'asembezezza oli eyantuma. 43JOH013.021 When Jesus had thus said, he was troubled in spirit, and testified, and said, Verily, verily, I say unto you, that one of you shall betray me. %%% Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ategeeza, n'ayogera nti Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe. 43JOH013.022 Then the disciples looked one on another, doubting of whom he spake. %%% Abayigirizwa ne batunulaganako, nga babuusabuusa gw'ayogeddeko bw'ali. 43JOH013.023 Now there was leaning on Jesus' bosom one of his disciples, whom Jesus loved. %%% Waaliwo omu ku bayigirizwa be eyali agalamidde mu kifuba kya Yesu ku mmere, Yesu gwe yayagalanga. 43JOH013.024 Simon Peter therefore beckoned to him, that he should ask who it should be of whom he spake. %%% Awo Simooni Peetero n'awenya oyo, n'amugamba nti Tubuulire gw'ayogeddeko bw'ali. 43JOH013.025 He then lying on Jesus' breast saith unto him, Lord, who is it? %%% Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti Mukama wange, ye ani? 43JOH013.026 Jesus answered, He it is, to whom I shall give a sop, when I have dipped it. And when he had dipped the sop, he gave it to Judas Iscariot, the son of Simon. %%% Awo Yesu n'addamu nti Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo. Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti. 43JOH013.027 And after the sop Satan entered into him. Then said Jesus unto him, That thou doest, do quickly. %%% Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti Ky'okola, kola mangu. 43JOH013.028 Now no man at the table knew for what intent he spake this unto him. %%% Naye ekigambo ekyo tewali muntu ku bo abaali batudde ku mmere eyakitegeera ekikimwogezza. 43JOH013.029 For some of them thought, because Judas had the bag, that Jesus had said unto him, Buy those things that we have need of against the feast; or, that he should give something to the poor. %%% Kubanga abalala baateerera nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti Gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu. 43JOH013.030 He then having received the sop went immediately out: and it was night. %%% Awo bwe yamala okuweebwa ekitole, amangu ago n'afuluma ebweru; bwali nga buzibye. 43JOH013.031 Therefore, when he was gone out, Jesus said, Now is the Son of man glorified, and God is glorified in him. %%% Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti Kaakano Omwana w'omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye; 43JOH013.032 If God be glorified in him, God shall also glorify him in himself, and shall straightway glorify him. %%% era Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, era amangu ago anaamugulumiza. 43JOH013.033 Little children, yet a little while I am with you. Ye shall seek me: and as I said unto the Jews, Whither I go, ye cannot come; so now I say to you. %%% Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano. 43JOH013.034 A new commandment I give unto you, That ye love one another; as I have loved you, that ye also love one another. %%% Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. 43JOH013.035 By this shall all men know that ye are my disciples, if ye have love one to another. %%% Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka. 43JOH013.036 Simon Peter said unto him, Lord, whither goest thou? Jesus answered him, Whither I go, thou canst not follow me now; but thou shalt follow me afterwards. %%% Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, ogenda wa? Yesu n'addamu nti Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano; naye olingoberera gye bujja. 43JOH013.037 Peter said unto him, Lord, why cannot I follow thee now? I will lay down my life for thy sake. %%% Peetero n'amugamba nti Mukama wange, kiki ekindobera okukugoberera kaakano? N'awaayo obulamu bwange ku lulwo. 43JOH013.038 Jesus answered him, Wilt thou lay down thy life for my sake? Verily, verily, I say unto thee, The cock shall not crow, till thou hast denied me thrice. %%% Yesu n'addamu nti Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'ononneegaana emirundi esatu. 43JOH014.001 Let not your heart be troubled: ye believe in God, believe also in me. %%% Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize. 43JOH014.002 In my Father's house are many mansions: if it were not so, I would have told you. I go to prepare a place for you. %%% Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. 43JOH014.003 And if I go and prepare a place for you, I will come again, and receive you unto myself; that where I am, there ye may be also. %%% Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo. 43JOH014.004 And whither I go ye know, and the way ye know. %%% Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi. 43JOH014.005 Thomas saith unto him, Lord, we know not whither thou goest; and how can we know the way? %%% Tomasi n'amugamba nti Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya? 43JOH014.006 Jesus saith unto him, I am the way, the truth, and the life: no man cometh unto the Father, but by me. %%% Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze. 43JOH014.007 If ye had known me, ye should have known my Father also: and from henceforth ye know him, and have seen him. %%% Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye. 43JOH014.008 Philip saith unto him, Lord, shew us the Father, and it sufficeth us. %%% Firipo n'amugamba nti Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala. 43JOH014.009 Jesus saith unto him, Have I been so long time with you, and yet hast thou not known me, Philip? he that hath seen me hath seen the Father; and how sayest thou then, Shew us the Father? %%% Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti Tulage Kitaffe? 43JOH014.010 Believest thou not that I am in the Father, and the Father in me? the words that I speak unto you I speak not of myself: but the Father that dwelleth in me, he doeth the works. %%% Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye. 43JOH014.011 Believe me that I am in the Father, and the Father in me: or else believe me for the very works' sake. %%% Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka. 43JOH014.012 Verily, verily, I say unto you, He that believeth on me, the works that I do shall he do also; and greater works than these shall he do; because I go unto my Father. %%% Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange. 43JOH014.013 And whatsoever ye shall ask in my name, that will I do, that the Father may be glorified in the Son. %%% Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. 43JOH014.014 If ye shall ask any thing in my name, I will do it. %%% Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga. 43JOH014.015 If ye love me, keep my commandments. %%% Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. 43JOH014.016 And I will pray the Father, and he shall give you another Comforter, that he may abide with you for ever; %%% Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. 43JOH014.017 Even the Spirit of truth; whom the world cannot receive, because it seeth him not, neither knoweth him: but ye know him; for he dwelleth with you, and shall be in you. %%% Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe. 43JOH014.018 I will not leave you comfortless: I will come to you. %%% Siribaleka bamulekwa; nkomawo gye muli. 43JOH014.019 Yet a little while, and the world seeth me no more; but ye see me: because I live, ye shall live also. %%% Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu. 43JOH014.020 At that day ye shall know that I am in my Father, and ye in me, and I in you. %%% Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, nammwe mu nze, nange mu mmwe. 43JOH014.021 He that hath my commandments, and keepeth them, he it is that loveth me: and he that loveth me shall be loved of my Father, and I will love him, and will manifest myself to him. %%% Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga. 43JOH014.022 Judas saith unto him, not Iscariot, Lord, how is it that thou wilt manifest thyself unto us, and not unto the world? %%% Yuda (atali Isukalyoti; n'amugamba nti Mukama waffe; kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikira ffe, so si eri ensi? 43JOH014.023 Jesus answered and said unto him, If a man love me, he will keep my words: and my Father will love him, and we will come unto him, and make our abode with him. %%% Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali. 43JOH014.024 He that loveth me not keepeth not my sayings: and the word which ye hear is not mine, but the Father's which sent me. %%% Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma. 43JOH014.025 These things have I spoken unto you, being yet present with you. %%% Ebigambo ebyo mbabuulidde nga nkyali nammwe. 43JOH014.026 But the Comforter, which is the Holy Ghost, whom the Father will send in my name, he shall teach you all things, and bring all things to your remembrance, whatsoever I have said unto you. %%% Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba. 43JOH014.027 Peace I leave with you, my peace I give unto you: not as the world giveth, give I unto you. Let not your heart be troubled, neither let it be afraid. %%% Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga. 43JOH014.028 Ye have heard how I said unto you, I go away, and come again unto you. If ye loved me, ye would rejoice, because I said, I go unto the Father: for my Father is greater than I. %%% Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu. 43JOH014.029 And now I have told you before it come to pass, that, when it is come to pass, ye might believe. %%% Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize. 43JOH014.030 Hereafter I will not talk much with you: for the prince of this world cometh, and hath nothing in me. %%% Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo; 43JOH014.031 But that the world may know that I love the Father; and as the Father gave me commandment, even so I do. Arise, let us go hence. %%% naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano. 43JOH015.001 I am the true vine, and my Father is the husbandman. %%% Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi. 43JOH015.002 Every branch in me that beareth not fruit he taketh away: and every branch that beareth fruit, he purgeth it, that it may bring forth more fruit. %%% Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala. 43JOH015.003 Now ye are clean through the word which I have spoken unto you. %%% Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. 43JOH015.004 Abide in me, and I in you. As the branch cannot bear fruit of itself, except it abide in the vine; no more can ye, except ye abide in me. %%% Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. 43JOH015.005 I am the vine, ye are the branches: He that abideth in me, and I in him, the same bringeth forth much fruit: for without me ye can do nothing. %%% Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola. 43JOH015.006 If a man abide not in me, he is cast forth as a branch, and is withered; and men gather them, and cast them into the fire, and they are burned. %%% Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya. 43JOH015.007 If ye abide in me, and my words abide in you, ye shall ask what ye will, and it shall be done unto you. %%% Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. 43JOH015.008 Herein is my Father glorified, that ye bear much fruit; so shall ye be my disciples. %%% Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. 43JOH015.009 As the Father hath loved me, so have I loved you: continue ye in my love. %%% Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. 43JOH015.010 If ye keep my commandments, ye shall abide in my love; even as I have kept my Father's commandments, and abide in his love. %%% Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe. 43JOH015.011 These things have I spoken unto you, that my joy might remain in you, and that your joy might be full. %%% Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire. 43JOH015.012 This is my commandment, That ye love one another, as I have loved you. %%% Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe. 43JOH015.013 Greater love hath no man than this, that a man lay down his life for his friends. %%% Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 43JOH015.014 Ye are my friends, if ye do whatsoever I command you. %%% Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. 43JOH015.015 Henceforth I call you not servants; for the servant knoweth not what his lord doeth: but I have called you friends; for all things that I have heard of my Father I have made known unto you. %%% Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe. 43JOH015.016 Ye have not chosen me, but I have chosen you, and ordained you, that ye should go and bring forth fruit, and that your fruit should remain: that whatsoever ye shall ask of the Father in my name, he may give it you. %%% Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga. 43JOH015.017 These things I command you, that ye love one another. %%% Mbalagidde bino, mwagalanenga. 43JOH015.018 If the world hate you, ye know that it hated me before it hated you. %%% Ensi bw'ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. 43JOH015.019 If ye were of the world, the world would love his own: but because ye are not of the world, but I have chosen you out of the world, therefore the world hateth you. %%% Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. 43JOH015.020 Remember the word that I said unto you, The servant is not greater than his lord. If they have persecuted me, they will also persecute you; if they have kept my saying, they will keep yours also. %%% Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe banaakikwatanga. 43JOH015.021 But all these things will they do unto you for my name's sake, because they know not him that sent me. %%% Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma. 43JOH015.022 If I had not come and spoken unto them, they had not had sin: but now they have no cloak for their sin. %%% Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe. 43JOH015.023 He that hateth me hateth my Father also. %%% Ankyawa nze akyawa ne Kitange. 43JOH015.024 If I had not done among them the works which none other man did, they had not had sin: but now have they both seen and hated both me and my Father. %%% Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange. 43JOH015.025 But this cometh to pass, that the word might be fulfilled that is written in their law, They hated me without a cause. %%% Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere. 43JOH015.026 But when the Comforter is come, whom I will send unto you from the Father, even the Spirit of truth, which proceedeth from the Father, he shall testify of me: %%% Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange: 43JOH015.027 And ye also shall bear witness, because ye have been with me from the beginning. %%% era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange. 43JOH016.001 These things have I spoken unto you, that ye should not be offended. %%% Ebyo, mbibabuulidde muleme okusittazibwanga. 43JOH016.002 They shall put you out of the synagogues: yea, the time cometh, that whosoever killeth you will think that he doeth God service. %%% Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda. 43JOH016.003 And these things will they do unto you, because they have not known the Father, nor me. %%% N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze. 43JOH016.004 But these things have I told you, that when the time shall come, ye may remember that I told you of them. And these things I said not unto you at the beginning, because I was with you. %%% Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe. 43JOH016.005 But now I go my way to him that sent me; and none of you asketh me, Whither goest thou? %%% Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa? 43JOH016.006 But because I have said these things unto you, sorrow hath filled your heart. %%% Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku. 43JOH016.007 Nevertheless I tell you the truth; It is expedient for you that I go away: for if I go not away, the Comforter will not come unto you; but if I depart, I will send him unto you. %%% Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli. 43JOH016.008 And when he is come, he will reprove the world of sin, and of righteousness, and of judgment: %%% Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango; 43JOH016.009 Of sin, because they believe not on me; %%% olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze; 43JOH016.010 Of righteousness, because I go to my Father, and ye see me no more; %%% olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate; 43JOH016.011 Of judgment, because the prince of this world is judged. %%% olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango. 43JOH016.012 I have yet many things to say unto you, but ye cannot bear them now. %%% Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano. 43JOH016.013 Howbeit when he, the Spirit of truth, is come, he will guide you into all truth: for he shall not speak of himself; but whatsoever he shall hear, that shall he speak: and he will shew you things to come. %%% Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja. 43JOH016.014 He shall glorify me: for he shall receive of mine, and shall shew it unto you. %%% Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe. 43JOH016.015 All things that the Father hath are mine: therefore said I, that he shall take of mine, and shall shew it unto you. %%% Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe. 43JOH016.016 A little while, and ye shall not see me: and again, a little while, and ye shall see me, because I go to the Father. %%% Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba. 43JOH016.017 Then said some of his disciples among themselves, What is this that he saith unto us, A little while, and ye shall not see me: and again, a little while, and ye shall see me: and, Because I go to the Father? %%% Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange? 43JOH016.018 They said therefore, What is this that he saith, A little while? we cannot tell what he saith. %%% Kyebaava bagamba nti Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba. 43JOH016.019 Now Jesus knew that they were desirous to ask him, and said unto them, Do ye enquire among yourselves of that I said, A little while, and ye shall not see me: and again, a little while, and ye shall see me? %%% Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba? 43JOH016.020 Verily, verily, I say unto you, That ye shall weep and lament, but the world shall rejoice: and ye shall be sorrowful, but your sorrow shall be turned into joy. %%% Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu. 43JOH016.021 A woman when she is in travail hath sorrow, because her hour is come: but as soon as she is delivered of the child, she remembereth no more the anguish, for joy that a man is born into the world. %%% Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi. 43JOH016.022 And ye now therefore have sorrow: but I will see you again, and your heart shall rejoice, and your joy no man taketh from you. %%% Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammw'e girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako. 43JOH016.023 And in that day ye shall ask me nothing. Verily, verily, I say unto you, Whatsoever ye shall ask the Father in my name, he will give it you. %%% Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange. 43JOH016.024 Hitherto have ye asked nothing in my name: ask, and ye shall receive, that your joy may be full. %%% Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire. 43JOH016.025 These things have I spoken unto you in proverbs: but the time cometh, when I shall no more speak unto you in proverbs, but I shall shew you plainly of the Father. %%% Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibibabuulira ebya Kitange mu lwatu. 43JOH016.026 At that day ye shall ask in my name: and I say not unto you, that I will pray the Father for you: %%% Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange; 43JOH016.027 For the Father himself loveth you, because ye have loved me, and have believed that I came out from God. %%% kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, mukkirizza nga nnava eri Kitange. 43JOH016.028 I came forth from the Father, and am come into the world: again, I leave the world, and go to the Father. %%% Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange. 43JOH016.029 His disciples said unto him, Lo, now speakest thou plainly, and speakest no proverb. %%% Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero. 43JOH016.030 Now are we sure that thou knowest all things, and needest not that any man should ask thee: by this we believe that thou camest forth from God. %%% Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda. 43JOH016.031 Jesus answered them, Do ye now believe? %%% Yesu n'abaddamu nti Kaakano mukkirizza? 43JOH016.032 Behold, the hour cometh, yea, is now come, that ye shall be scattered, every man to his own, and shall leave me alone: and yet I am not alone, because the Father is with me. %%% Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira, buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange. 43JOH016.033 These things I have spoken unto you, that in me ye might have peace. In the world ye shall have tribulation: but be of good cheer; I have overcome the world. %%% Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi. 43JOH017.001 These words spake Jesus, and lifted up his eyes to heaven, and said, Father, the hour is come; glorify thy Son, that thy Son also may glorify thee: %%% Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize: 43JOH017.002 As thou hast given him power over all flesh, that he should give eternal life to as many as thou hast given him. %%% nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo. 43JOH017.003 And this is life eternal, that they might know thee the only true God, and Jesus Christ, whom thou hast sent. %%% Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo. 43JOH017.004 I have glorified thee on the earth: I have finished the work which thou gavest me to do. %%% Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza. 43JOH017.005 And now, O Father, glorify thou me with thine own self with the glory which I had with thee before the world was. %%% Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo. 43JOH017.006 I have manifested thy name unto the men which thou gavest me out of the world: thine they were, and thou gavest them me; and they have kept thy word. %%% Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo. 43JOH017.007 Now they have known that all things whatsoever thou hast given me are of thee. %%% Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe: 43JOH017.008 For I have given unto them the words which thou gavest me; and they have received them, and have known surely that I came out from thee, and they have believed that thou didst send me. %%% kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 43JOH017.009 I pray for them: I pray not for the world, but for them which thou hast given me; for they are thine. %%% Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo: 43JOH017.010 And all mine are thine, and thine are mine; and I am glorified in them. %%% era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo. 43JOH017.011 And now I am no more in the world, but these are in the world, and I come to thee. Holy Father, keep through thine own name those whom thou hast given me, that they may be one, as we are. %%% Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe. 43JOH017.012 While I was with them in the world, I kept them in thy name: those that thou gavest me I have kept, and none of them is lost, but the son of perdition; that the scripture might be fulfilled. %%% Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire. 43JOH017.013 And now come I to thee; and these things I speak in the world, that they might have my joy fulfilled in themselves. %%% Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 43JOH017.014 I have given them thy word; and the world hath hated them, because they are not of the world, even as I am not of the world. %%% Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. 43JOH017.015 I pray not that thou shouldest take them out of the world, but that thou shouldest keep them from the evil. %%% Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. 43JOH017.016 They are not of the world, even as I am not of the world. %%% Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 43JOH017.017 Sanctify them through thy truth: thy word is truth. %%% Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima, 43JOH017.018 As thou hast sent me into the world, even so have I also sent them into the world. %%% Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi. 43JOH017.019 And for their sakes I sanctify myself, that they also might be sanctified through the truth. %%% Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima. 43JOH017.020 Neither pray I for these alone, but for them also which shall believe on me through their word; %%% So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe; 43JOH017.021 That they all may be one; as thou, Father, art in me, and I in thee, that they also may be one in us: that the world may believe that thou hast sent me. %%% bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma. 43JOH017.022 And the glory which thou gavest me I have given them; that they may be one, even as we are one: %%% Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; 43JOH017.023 I in them, and thou in me, that they may be made perfect in one; and that the world may know that thou hast sent me, and hast loved them, as thou hast loved me. %%% nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze. 43JOH017.024 Father, I will that they also, whom thou hast given me, be with me where I am; that they may behold my glory, which thou hast given me: for thou lovedst me before the foundation of the world. %%% Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa. 43JOH017.025 O righteous Father, the world hath not known thee: but I have known thee, and these have known that thou hast sent me. %%% Kitange Omutuukirivu ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma; 43JOH017.026 And I have declared unto them thy name, and will declare it: that the love wherewith thou hast loved me may be in them, and I in them. %%% era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo. 43JOH018.001 When Jesus had spoken these words, he went forth with his disciples over the brook Cedron, where was a garden, into the which he entered, and his disciples. %%% Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n'afuluma n'abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n'agenda omwo ye n'abayigirizwa be. 43JOH018.002 And Judas also, which betrayed him, knew the place: for Jesus ofttimes resorted thither with his disciples. %%% Era ne Yuda amulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo: kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi n'abayigirizwa be. 43JOH018.003 Judas then, having received a band of men and officers from the chief priests and Pharisees, cometh thither with lanterns and torches and weapons. %%% Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajjayo ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu. 43JOH018.004 Jesus therefore, knowing all things that should come upon him, went forth, and said unto them, Whom seek ye? %%% Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n'avaayo n'abagamba nti Munoonya ani? 43JOH018.005 They answered him, Jesus of Nazareth. Jesus saith unto them, I am he. And Judas also, which betrayed him, stood with them. %%% Ne bamuddamu nti Yesu Omunazaaleesi. Yesu n'abagamba nti Nze nzuuno. Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 43JOH018.006 As soon then as he had said unto them, I am he, they went backward, and fell to the ground. %%% Awo bwe yabagamba nti Nze nzuuno, ne badda ennyuma ne bagwa wansi. 43JOH018.007 Then asked he them again, Whom seek ye? And they said, Jesus of Nazareth. %%% Ate n'ababuuza omulundi ogw'okubiri nti Munoonya ani? Ne bagamba nti Yesu Omunazaaleesi. 43JOH018.008 Jesus answered, I have told you that I am he: if therefore ye seek me, let these go their way: %%% Yesu n'addamu nti Mbabuulidde nti nze nzuuno: kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende: 43JOH018.009 That the saying might be fulfilled, which he spake, Of them which thou gavest me have I lost none. %%% ekigambo kye yayogera kituukirizibwe nti Ku abo be wampa saabuzaako n'omu. 43JOH018.010 Then Simon Peter having a sword drew it, and smote the high priest's servant, and cut off his right ear. The servant's name was Malchus. %%% Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko. 43JOH018.011 Then said Jesus unto Peter, Put up thy sword into the sheath: the cup which my Father hath given me, shall I not drink it? %%% Awo Yesu n'agamba Peetero nti Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo: ekikompe Kitange ky'ampadde, siikinywe? 43JOH018.012 Then the band and the captain and officers of the Jews took Jesus, and bound him, %%% Awo ekitongole ky'abaserikale, n'omwami waabwe omukulu, n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba, 43JOH018.013 And led him away to Annas first; for he was father in law to Caiaphas, which was the high priest that same year. %%% ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli. 43JOH018.014 Now Caiaphas was he, which gave counsel to the Jews, that it was expedient that one man should die for the people. %%% Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu. 43JOH018.015 And Simon Peter followed Jesus, and so did another disciple: that disciple was known unto the high priest, and went in with Jesus into the palace of the high priest. %%% Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa kabona asinga obukulu; 43JOH018.016 But Peter stood at the door without. Then went out that other disciple, which was known unto the high priest, and spake unto her that kept the door, and brought in Peter. %%% naye Peetero yali ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n'afuluma n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero. 43JOH018.017 Then saith the damsel that kept the door unto Peter, Art not thou also one of this man's disciples? He saith, I am not. %%% Awo omuwala oyo omuggazi w'oluggi n'agamba Peetero nti Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono? N'agamba nti Siri waamu. 43JOH018.018 And the servants and officers stood there, who had made a fire of coals; for it was cold: and they warmed themselves: and Peter stood with them, and warmed himself. %%% Abaddu n'abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw'amanda; kubanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng'ayimiridde ng'ayota omuliro. 43JOH018.019 The high priest then asked Jesus of his disciples, and of his doctrine. %%% Awo kabona asinga obukulu n'abuuza Yesu ebigambo by'abayigirizwa be, n'eby'okuyigiriza kwe. 43JOH018.020 Jesus answered him, I spake openly to the world; I ever taught in the synagogue, and in the temple, whither the Jews always resort; and in secret have I said nothing. %%% Yesu n'amuddamu nti nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu. 43JOH018.021 Why askest thou me? ask them which heard me, what I have said unto them: behold, they know what I said. %%% Ombuuliza ki? buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera. 43JOH018.022 And when he had thus spoken, one of the officers which stood by struck Jesus with the palm of his hand, saying, Answerest thou the high priest so? %%% Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n'akuba Yesu oluyi n'agamba nti Oddamu oti kabona asinga obukulu? 43JOH018.023 Jesus answered him, If I have spoken evil, bear witness of the evil: but if well, why smitest thou me? %%% Yesu n'amuddamu nti Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki? 43JOH018.024 Now Annas had sent him bound unto Caiaphas the high priest. %%% Awo Ana n'amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu. 43JOH018.025 And Simon Peter stood and warmed himself. They said therefore unto him, Art not thou also one of his disciples? He denied it, and said, I am not. %%% Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti Naawe oli wa mu bayigirizwa be? Ye ne yeegaana n'agamba nti Siri waamu. 43JOH018.026 One of the servants of the high priest, being his kinsman whose ear Peter cut off, saith, Did not I see thee in the garden with him? %%% Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti Nze saakulabye naye mu lusuku muli? 43JOH018.027 Peter then denied again: and immediately the cock crew. %%% Peetero ne yeegaana nate: amangu ago enkoko n'ekookolima. 43JOH018.028 Then led they Jesus from Caiaphas unto the hall of judgment: and it was early; and they themselves went not into the judgment hall, lest they should be defiled; but that they might eat the passover. %%% Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako. 43JOH018.029 Pilate then went out unto them, and said, What accusation bring ye against this man? %%% Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti Musango ki gwe mulanze omuntu ono? 43JOH018.030 They answered and said unto him, If he were not a malefactor, we would not have delivered him up unto thee. %%% Ne baddamu ne bamugamba nti Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy'oli. 43JOH018.031 Then said Pilate unto them, Take ye him, and judge him according to your law. The Jews therefore said unto him, It is not lawful for us to put any man to death: %%% Awo Piraato n'abagamba nti Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali. Abayudaaya ne bamugamba nti Tekyatulagirwa kutta muntu yenna; 43JOH018.032 That the saying of Jesus might be fulfilled, which he spake, signifying what death he should die. %%% ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng'alaga okufa kw'agenda okufa bwe kuli. 43JOH018.033 Then Pilate entered into the judgment hall again, and called Jesus, and said unto him, Art thou the King of the Jews? %%% Awo Piraato n'ayingira nate mu kigango, n'ayita Yesu n'amugamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? 43JOH018.034 Jesus answered him, Sayest thou this thing of thyself, or did others tell it thee of me? %%% Yesu n'addamu nti Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange? 43JOH018.035 Pilate answered, Am I a Jew? Thine own nation and the chief priests have delivered thee unto me: what hast thou done?9 %%% Piraato n'addamu nti Nze ndi Muyudaaya? Ab'eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki? 43JOH018.036 Jesus answered, My kingdom is not of this world: if my kingdom were of this world, then would my servants fight, that I should not be delivered to the Jews: but now is my kingdom not from hence. %%% Yesu n'addamu nti Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano. 43JOH018.037 Pilate therefore said unto him, Art thou a king then? Jesus answered, Thou sayest that I am a king. To this end was I born, and for this cause came I into the world, that I should bear witness unto the truth. Every one that is of the truth heareth my voice. %%% Awo Piraato n'amugamba nti Kale ggwe kabaka? Yesu n'addamu nti Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange. 43JOH018.038 Pilate saith unto him, What is truth? And when he had said this, he went out again unto the Jews, and saith unto them, I find in him no fault at all. %%% Piraato n'amugamba nti Amazima kye ki? Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti Siraba musango ku ye. 43JOH018.039 But ye have a custom, that I should release unto you one at the passover: will ye therefore that I release unto you the King of the Jews? %%% Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya? 43JOH018.040 Then cried they all again, saying, Not this man, but Barabbas. Now Barabbas was a robber. %%% Awo ne bakaayana, ne bagamba nti Si ono, wabula Balaba. N'oyo Balaba yali munyazi. 43JOH019.001 Then Pilate therefore took Jesus, and scourged him. %%% Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo. 43JOH019.002 And the soldiers platted a crown of thorns, and put it on his head, and they put on him a purple robe, %%% Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bamutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu; 43JOH019.003 And said, Hail, King of the Jews! and they smote him with their hands. %%% ne bajja w'ali ne bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! ne bamukuba empi. 43JOH019.004 Pilate therefore went forth again, and saith unto them, Behold, I bring him forth to you, that ye may know that I find no fault in him. %%% Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye. 43JOH019.005 Then came Jesus forth, wearing the crown of thorns, and the purple robe. And Pilate saith unto them, Behold the man! %%% Awo Yesu n'afuluma, ng'ayambadde engule y'amaggwa n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti Laba omuntu oyo! 43JOH019.006 When the chief priests therefore and officers saw him, they cried out, saying, Crucify him, crucify him. Pilate saith unto them, Take ye him, and crucify him: for I find no fault in him. %%% Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Komerera, komerera: Piraato n'abagamba nti Mumutwale mmwe mumukomerere: kubanga nze siraba musango ku ye. 43JOH019.007 The Jews answered him, We have a law, and by our law he ought to die, because he made himself the Son of God. %%% Abayudaaya ne bamuddamu nti Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda. 43JOH019.008 When Pilate therefore heard that saying, he was the more afraid; %%% Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya; 43JOH019.009 And went again into the judgment hall, and saith unto Jesus, Whence art thou? But Jesus gave him no answer. %%% n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti Oli wa wa? Naye Yesu n'atamuddamu. 43JOH019.010 Then saith Pilate unto him, Speakest thou not unto me? knowest thou not that I have power to crucify thee, and have power to release thee? %%% Awo Piraato n'amugamba nti Toyogera nange? tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera? 43JOH019.011 Jesus answered, Thou couldest have no power at all against me, except it were given thee from above: therefore he that delivered me unto thee hath the greater sin. %%% Yesu n'amuddamu nti Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga. 43JOH019.012 And from thenceforth Pilate sought to release him: but the Jews cried out, saying, If thou let this man go, thou art not Caesar's friend: whosoever maketh himself a king speaketh against Caesar. %%% Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali. 43JOH019.013 When Pilate therefore heard that saying, he brought Jesus forth, and sat down in the judgment seat in a place that is called the Pavement, but in the Hebrew, Gabbatha. %%% Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa. 43JOH019.014 And it was the preparation of the passover, and about the sixth hour: and he saith unto the Jews, Behold your King! %%% Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti Laba Kabaka wammwe! 43JOH019.015 But they cried out, Away with him, away with him, crucify him. Pilate saith unto them, Shall I crucify your King? The chief priests answered, We have no king but Caesar. %%% Awo bo ne boogerera waggulu nti Muggyeewo, muggyeewo mukomerere. Piraato n'abagamba nti Nnaakomerera Kabaka wammwe? Bakabona abakulu ne baddamu nti Tetulina kabaka wabula Kayisaali. 43JOH019.016 Then delivered he him therefore unto them to be crucified. And they took Jesus, and led him away. %%% Awo n'alyoka amubawa okukomererwa. Awo ne batwala Yesu: 43JOH019.017 And he bearing his cross went forth into a place called the place of a skull, which is called in the Hebrew Golgotha: %%% n'afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa: 43JOH019.018 Where they crucified him, and two other with him, on either side one, and Jesus in the midst. %%% ne bamukomererera awo, era n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, ne Yesu wakati. 43JOH019.019 And Pilate wrote a title, and put it on the cross. And the writing was, JESUS OF NAZARETH THE KING OF THE JEWS. %%% Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti YESU OMUNAZAALEESI KABAKA W'ABAYUDAAYA. 43JOH019.020 This title then read many of the Jews: for the place where Jesus was crucified was nigh to the city: and it was written in Hebrew, and Greek, and Latin. %%% Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi. 43JOH019.021 Then said the chief priests of the Jews to Pilate, Write not, The King of the Jews; but that he said, I am King of the Jews. %%% Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bamugamba Piraato nti Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya. 43JOH019.022 Pilate answered, What I have written I have written. %%% Piraato n'addamu nti Kye mpandiise kye mpandiise. 43JOH019.023 Then the soldiers, when they had crucified Jesus, took his garments, and made four parts, to every soldier a part; and also his coat: now the coat was without seam, woven from the top throughout. %%% Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu. 43JOH019.024 They said therefore among themselves, Let us not rend it, but cast lots for it, whose it shall be: that the scripture might be fulfilled, which saith, They parted my raiment among them, and for my vesture they did cast lots. These things therefore the soldiers did. %%% Ne bagamba bokka na bokka nti Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo: ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti Baagabana ebyambalo byange, Era baakubira akalulu eky'okwambala kyange. Awo basserikale ne bakola ebyo. 43JOH019.025 Now there stood by the cross of Jesus his mother, and his mother's sister, Mary the wife of Cleophas, and Mary Magdalene. %%% Naye awo awali omusalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene. 43JOH019.026 When Jesus therefore saw his mother, and the disciple standing by, whom he loved, he saith unto his mother, Woman, behold thy son! %%% Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti Omukyala, laba, omwana wo! 43JOH019.027 Then saith he to the disciple, Behold thy mother! And from that hour that disciple took her unto his own home. %%% Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti Laba nnyoko! Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe. 43JOH019.028 After this, Jesus knowing that all things were now accomplished, that the scripture might be fulfilled, saith, I thirst. %%% Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta. 43JOH019.029 Now there was set a vessel full of vinegar: and they filled a spunge with vinegar, and put it upon hyssop, and put it to his mouth. %%% Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe. 43JOH019.030 When Jesus therefore had received the vinegar, he said, It is finished: and he bowed his head, and gave up the ghost. %%% Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti 43JOH019.031 The Jews therefore, because it was the preparation, that the bodies should not remain upon the cross on the sabbath day, (for that sabbath day was an high day,) besought Pilate that their legs might be broken, and that they might be taken away. %%% Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe. 43JOH019.032 Then came the soldiers, and brake the legs of the first, and of the other which was crucified with him. %%% Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye: 43JOH019.033 But when they came to Jesus, and saw that he was dead already, they brake not his legs: %%% naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu: 43JOH019.034 But one of the soldiers with a spear pierced his side, and forthwith came there out blood and water. %%% naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi. 43JOH019.035 And he that saw it bare record, and his record is true: and he knoweth that he saith true, that ye might believe. %%% Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize. 43JOH019.036 For these things were done, that the scripture should be fulfilled, A bone of him shall not be broken. %%% Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti Talimenyebwa ggumba. 43JOH019.037 And again another scripture saith, They shall look on him whom they pierced. %%% Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti Balimulaba gwe baafumita. 43JOH019.038 And after this Joseph of Arimathaea, being a disciple of Jesus, but secretly for fear of the Jews, besought Pilate that he might take away the body of Jesus: and Pilate gave him leave. He came therefore, and took the body of Jesus. %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggyako omulambo gwa Yesu: awo Piraato n'akkiriza. N'ajja, n'aggyako omulambo gwe. 43JOH019.039 And there came also Nicodemus, which at the first came to Jesus by night, and brought a mixture of myrrh and aloes, about an hundred pound weight. %%% Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bw'abyo laateri nga kikumi. 43JOH019.040 Then took they the body of Jesus, and wound it in linen clothes with the spices, as the manner of the Jews is to bury. %%% Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, nga Abayudaaya bwe bayisa okuziika. 43JOH019.041 Now in the place where he was crucified there was a garden; and in the garden a new sepulchre, wherein was never man yet laid. %%% Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku; ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu. 43JOH019.042 There laid they Jesus therefore because of the Jews' preparation day; for the sepulchre was nigh at hand. %%% Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu. 43JOH020.001 The first day of the week cometh Mary Magdalene early, when it was yet dark, unto the sepulchre, and seeth the stone taken away from the sepulchre. %%% Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana. 43JOH020.002 Then she runneth, and cometh to Simon Peter, and to the other disciple, whom Jesus loved, and saith unto them, They have taken away the LORD out of the sepulchre, and we know not where they have laid him. %%% Awo n'addukana, n'ajja eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde. 43JOH020.003 Peter therefore went forth, and that other disciple, and came to the sepulchre. %%% Awo Peetero n'afuluma, n'omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana. 43JOH020.004 So they ran both together: and the other disciple did outrun Peter, and came first to the sepulchre. %%% Ne baddukana bombi wamu; n'omuyigirizwa oyo omulala n'ayisa Peetero, n'asooka okutuuka ku ntaana: 43JOH020.005 And he stooping down, and looking in, saw the linen clothes lying; yet went he not in. %%% n'akutama n'alingizaamu, n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo; naye n'atayingira. 43JOH020.006 Then cometh Simon Peter following him, and went into the sepulchre, and seeth the linen clothes lie, %%% Awo ne Simooni Peetero n'ajja ng'amugoberera, n'ayingira mu ntaana; n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo. 43JOH020.007 And the napkin, that was about his head, not lying with the linen clothes, but wrapped together in a place by itself. %%% n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z'ekitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali. 43JOH020.008 Then went in also that other disciple, which came first to the sepulchre, and he saw, and believed. %%% Awo n'omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n'ayingira, n'alaba n'akkiriza. 43JOH020.009 For as yet they knew not the scripture, that he must rise again from the dead. %%% Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti kimugwanira okuzuukira mu bafu. 43JOH020.010 Then the disciples went away again unto their own home. %%% Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka. 43JOH020.011 But Mary stood without at the sepulchre weeping: and as she wept, she stooped down, and looked into the sepulchre, %%% Naye Malyamu yali ayimiridde ebweru awaali entaana ng'akaaba: awo bwe yali ng'akaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana; 43JOH020.012 And seeth two angels in white sitting, the one at the head, and the other at the feet, where the body of Jesus had lain. %%% n'alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe omulala mirannamiro, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. 43JOH020.013 And they say unto her, Woman, why weepest thou? She saith unto them, Because they have taken away my LORD, and I know not where they have laid him. %%% Abo ne bamugamba nti Omukyala, okaabira ki? N'abagamba nti Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde. 43JOH020.014 And when she had thus said, she turned herself back, and saw Jesus standing, and knew not that it was Jesus. %%% Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'akyuka ennyuma, n'alaba Yesu ng'ayimiridde, n'atamanya nga ye Yesu. 43JOH020.015 Jesus saith unto her, Woman, why weepest thou? whom seekest thou? She, supposing him to be the gardener, saith unto him, Sir, if thou have borne him hence, tell me where thou hast laid him, and I will take him away. %%% Yesu n'amugamba nti Omukyala, okaabira ki? onoonya ani? Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo. 43JOH020.016 Jesus saith unto her, Mary. She turned herself, and saith unto him, Rabboni; which is to say, Master. %%% Yesu n'amugamba nti Malyamu. N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti Labooni; amakulu gaakyo Muyigiriza. 43JOH020.017 Jesus saith unto her, Touch me not; for I am not yet ascended to my Father: but go to my brethren, and say unto them, I ascend unto my Father, and your Father; and to my God, and your God. %%% Yesu n'amugamba nti Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe. 43JOH020.018 Mary Magdalene came and told the disciples that she had seen the LORD, and that he had spoken these things unto her. %%% Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw'amugambye ebigambo bino. 43JOH020.019 Then the same day at evening, being the first day of the week, when the doors were shut where the disciples were assembled for fear of the Jews, came Jesus and stood in the midst, and saith unto them, Peace be unto you. %%% Awo ku lunaku luli akawugeezi, ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe. 43JOH020.020 And when he had so said, he shewed unto them his hands and his side. Then were the disciples glad, when they saw the LORD. %%% Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe. 43JOH020.021 Then said Jesus to them again, Peace be unto you: as my Father hath sent me, even so send I you. %%% Awo Yesu n'abagamba nate nti Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe. 43JOH020.022 And when he had said this, he breathed on them, and saith unto them, Receive ye the Holy Ghost: %%% Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti Mutoole Omwoyo Omutukuvu: 43JOH020.023 Whose soever sins ye remit, they are remitted unto them; and whose soever sins ye retain, they are retained. %%% be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibiranga ebibi bonna, basibirwa. 43JOH020.024 But Thomas, one of the twelve, called Didymus, was not with them when Jesus came. %%% Naye Tomasi omu ku kkumi n'ababiri, eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja. 43JOH020.025 The other disciples therefore said unto him, We have seen the LORD. But he said unto them, Except I shall see in his hands the print of the nails, and put my finger into the print of the nails, and thrust my hand into his side, I will not believe. %%% Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti Tulabye Mukama waffe. Naye n'abagamba nti Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono. 43JOH020.026 And after eight days again his disciples were within, and Thomas with them: then came Jesus, the doors being shut, and stood in the midst, and said, Peace be unto you. %%% Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti Emirembe gibe mu mmwe. 43JOH020.027 Then saith he to Thomas, Reach hither thy finger, and behold my hands; and reach hither thy hand, and thrust it into my side: and be not faithless, but believing. %%% Awo n'agamba Tomasi nti Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza. 43JOH020.028 And Thomas answered and said unto him, My LORD and my God. %%% Tomasi n'addamu n'amugamba nti Ggwe Mukama wange, era Katonda wange. 43JOH020.029 Jesus saith unto him, Thomas, because thou hast seen me, thou hast believed: blessed are they that have not seen, and yet have believed. %%% Yesu n'amugamba nti Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye. 43JOH020.030 And many other signs truly did Jesus in the presence of his disciples, which are not written in this book: %%% Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa, obutawandiikiddwa mu kitabo kino; 43JOH020.031 But these are written, that ye might believe that Jesus is the Christ, the Son of God; and that believing ye might have life through his name. %%% naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n'obulamu mu linnya lye. 43JOH021.001 After these things Jesus shewed himself again to the disciples at the sea of Tiberias; and on this wise shewed he himself. %%% Oluvannyuma lw'ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja eye Tiberiya; ne yeeraga bw'ati. 43JOH021.002 There were together Simon Peter, and Thomas called Didymus, and Nathanael of Cana in Galilee, and the sons of Zebedee, and two other of his disciples. %%% Baali bali wamu Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow'e Kaana eky'e Ggaliraaya, n'abaana ba Zebbedaayo, n'abayigirizwa be abalala babiri. 43JOH021.003 Simon Peter saith unto them, I go a fishing. They say unto him, We also go with thee. They went forth, and entered into a ship immediately; and that night they caught nothing. %%% Simooni Peetero n'abagamba nti ŋŋenda kuvuba. Ne bamugamba nti Naffe tugenda naawe. Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu. 43JOH021.004 But when the morning was now come, Jesus stood on the shore: but the disciples knew not that it was Jesus. %%% Naye bwali bukya Yesu n'ayimirira ku ttale: naye abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu. 43JOH021.005 Then Jesus saith unto them, Children, have ye any meat? They answered him, No. %%% Awo Yesu n'abagamba nti Abaana, mulina ekyokuliira? Ne bamuddamu nti Tetulina. 43JOH021.006 And he said unto them, Cast the net on the right side of the ship, and ye shall find. They cast therefore, and now they were not able to draw it for the multitude of fishes. %%% N'abagamba nti Musuule omugonjo ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa. Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kuguwalula olw'ebyennyanja ebingi. 43JOH021.007 Therefore that disciple whom Jesus loved saith unto Peter, It is the Lord. Now when Simon Peter heard that it was the Lord, he girt his fisher's coat unto him, (for he was naked,) and did cast himself into the sea. %%% Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetero nti Ye Mukama waffe. Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja. 43JOH021.008 And the other disciples came in a little ship; (for they were not far from land, but as it were two hundred cubits,) dragging the net with fishes. %%% Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri,) nga bawalula omugonjo ogulimu ebyennyanja. 43JOH021.009 As soon then as they were come to land, they saw a fire of coals there, and fish laid thereon, and bread. %%% Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati. 43JOH021.010 Jesus saith unto them, Bring of the fish which ye have now caught. %%% Yesu n'abagamba nti Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano. 43JOH021.011 Simon Peter went up, and drew the net to land full of great fishes, an hundred and fifty and three: and for all there were so many, yet was not the net broken. %%% Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira omugonjo ku ttale, nga gujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu: naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, omugonjo ne gutakutuka. 43JOH021.012 Jesus saith unto them, Come and dine. And none of the disciples durst ask him, Who art thou? knowing that it was the Lord. %%% Yesu n'abagamba nti Mujje mulye. So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti Ggwe ani, nga bamanyi nga ye Mukama waffe. 43JOH021.013 Jesus then cometh, and taketh bread, and giveth them, and fish likewise. %%% Yesu n'ajja, n'addira omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo. 43JOH021.014 This is now the third time that Jesus shewed himself to his disciples, after that he was risen from the dead. %%% Guno gwe mulundi ogw'okusatu Yesu bwe yalabika mu bayigirizwa, oluvannyuma ng'amaze okuzuukira mu bafu. 43JOH021.015 So when they had dined, Jesus saith to Simon Peter, Simon, son of Jonas, lovest thou me more than these? He saith unto him, Yea, Lord; thou knowest that I love thee. He saith unto him, Feed my lambs. %%% Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Liisanga abaana b'endiga bange. 43JOH021.016 He saith to him again the second time, Simon, son of Jonas, lovest thou me? He saith unto him, Yea, Lord; thou knowest that I love thee. He saith unto him, Feed my sheep. %%% N'amugamba nate omulundi ogw'okubiri nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Lundanga endiga zange. 43JOH021.017 He saith unto him the third time, Simon, son of Jonas, lovest thou me? Peter was grieved because he said unto him the third time, Lovest thou me? And he said unto him, Lord, thou knowest all things; thou knowest that I love thee. Jesus saith unto him, Feed my sheep. %%% N'amugamba omulundi ogw'okusatu nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogw'okusatu nti Onjagala? N'amugamba nti Mukama wange, ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala. Yesu n'amugamba nti Liisanga endiga zange. 43JOH021.018 Verily, verily, I say unto thee, When thou wast young, thou girdedst thyself, and walkedst whither thou wouldest: but when thou shalt be old, thou shalt stretch forth thy hands, and another shall gird thee, and carry thee whither thou wouldest not. %%% Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala. 43JOH021.019 This spake he, signifying by what death he should glorify God. And when he had spoken this, he saith unto him, Follow me. %%% Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti Ngoberera. 43JOH021.020 Then Peter, turning about, seeth the disciple whom Jesus loved following; which also leaned on his breast at supper, and said, Lord, which is he that betrayeth thee? %%% Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe? 43JOH021.021 Peter seeing him saith to Jesus, Lord, and what shall this man do? %%% Awo Peetero bwe yalaba oyo n'agamba Yesu nti Mukama wange, n'ono aliba ki? 43JOH021.022 Jesus saith unto him, If I will that he tarry till I come, what is that to thee? follow thou me. %%% Yesu n'amugamba nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? ggwe goberera nze. 43JOH021.023 Then went this saying abroad among the brethren, that that disciple should not die: yet Jesus said not unto him, He shall not die; but, If I will that he tarry till I come, what is that to thee? %%% Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? 43JOH021.024 This is the disciple which testifieth of these things, and wrote these things: and we know that his testimony is true. %%% Oyo ye muyigirizwa eyategeeza bino, n'awandiika bino; naffe tumanyi ng'okutegeeza kwe kwa mazima. 43JOH021.025 And there are also many other things which Jesus did, the which, if they should be written every one, I suppose that even the world itself could not contain the books that should be written. Amen. %%% Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa. 44ACT001.001 The former treatise have I made, O Theophilus, of all that Jesus began both to do and teach, %%% Ekitabo eky'olubereberye nnakikola, munnange Teefiro, ekya byonna Yesu bye yasooka okukola n'okuyigiriza, 44ACT001.002 Until the day in which he was taken up, after that he through the Holy Ghost had given commandments unto the apostles whom he had chosen: %%% okutuusa ku lunaku luli bwe yamala okulagira ku bw'Omwoyo Omutukuvu abatume be yalonda n'atwalibwa mu ggulu. 44ACT001.003 To whom also he shewed himself alive after his passion by many infallible proofs, being seen of them forty days, and speaking of the things pertaining to the kingdom of God: %%% Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira ebbanga ly'ennaku amakumi ana, ng'ayogera eby'obwakabaka bwa Katonda. 44ACT001.004 And, being assembled together with them, commanded them that they should not depart from Jerusalem, but wait for the promise of the Father, which, saith he, ye have heard of me. %%% Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira gy'ali: 44ACT001.005 For John truly baptized with water; but ye shall be baptized with the Holy Ghost not many days hence. %%% kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi. 44ACT001.006 When they therefore were come together, they asked of him, saying, Lord, wilt thou at this time restore again the kingdom to Israel? %%% Awo bwe baakuŋŋaana ne bamubuuza nga bagamba nti Mukama waffe, mu biro bino mw'onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri? 44ACT001.007 And he said unto them, It is not for you to know the times or the seasons, which the Father hath put in his own power. %%% N'abagamba nti Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye. 44ACT001.008 But ye shall receive power, after that the Holy Ghost is come upon you: and ye shall be witnesses unto me both in Jerusalem, and in all Judaea, and in Samaria, and unto the uttermost part of the earth. %%% Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi. 44ACT001.009 And when he had spoken these things, while they beheld, he was taken up; and a cloud received him out of their sight. %%% Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunuulira, n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe. 44ACT001.010 And while they looked stedfastly toward heaven as he went up, behold, two men stood by them in white apparel; %%% Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula; 44ACT001.011 Which also said, Ye men of Galilee, why stand ye gazing up into heaven? this same Jesus, which is taken up from you into heaven, shall so come in like manner as ye have seen him go into heaven. %%% abaayogera nti Abantu b’e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuulira mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu. 44ACT001.012 Then returned they unto Jerusalem from the mount called Olivet, which is from Jerusalem a sabbath day's journey. %%% Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku ssabbiiti. 44ACT001.013 And when they were come in, they went up into an upper room, where abode both Peter, and James, and John, and Andrew, Philip, and Thomas, Bartholomew, and Matthew, James the son of Alphaeus, and Simon Zelotes, and Judas the brother of James. %%% Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baatuulanga; Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Simooni Zerote, ne Yuda omwana wa Yakobo. 44ACT001.014 These all continued with one accord in prayer and supplication, with the women, and Mary the mother of Jesus, and with his brethren. %%% Abo bonna baali nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakazi ne Malyamu nnyina Yesu, ne baganda be. 44ACT001.015 And in those days Peter stood up in the midst of the disciples, and said, (the number of names together were about an hundred and twenty,) %%% Mu nnaku ezo Peetero n'ayimirira wakati mu b'oluganda n’ayogera (ekibiina ky'abantu abaakuŋŋaana baali nga kikumi mu abiri) nti 44ACT001.016 Men and brethren, this scripture must needs have been fulfilled, which the Holy Ghost by the mouth of David spake before concerning Judas, which was guide to them that took Jesus. %%% Abasajja ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu; 44ACT001.017 For he was numbered with us, and had obtained part of this ministry. %%% kubanga yabalirwa wamu naffe, n'aweebwa omugabo gw'okuweereza kuno. 44ACT001.018 Now this man purchased a field with the reward of iniquity; and falling headlong, he burst asunder in the midst, and all his bowels gushed out. %%% (Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika. 44ACT001.019 And it was known unto all the dwellers at Jerusalem; insomuch as that field is called in their proper tongue, Aceldama, that is to say, The field of blood. %%% Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, ye nnimiro ey'omusaayi.) 44ACT001.020 For it is written in the book of Psalms, Let his habitation be desolate, and let no man dwell therein: and his bishoprick let another take. %%% Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti Ekibanja kye kizike, So kireme okubeerangamu omuntu: era nti Obukulu bwe buweebwe omulala. 44ACT001.021 Wherefore of these men which have companied with us all the time that the Lord Jesus went in and out among us, %%% Kale kigwanye mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna bwe yayingiranga n'avanga gye tuli Mukama waffe Yesu 44ACT001.022 Beginning from the baptism of John, unto that same day that he was taken up from us, must one be ordained to be a witness with us of his resurrection. %%% okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe. 44ACT001.023 And they appointed two, Joseph called Barsabas, who was surnamed Justus, and Matthias. %%% Ne baloada babiri, Yusufu ayitibwa Balusaba, n'atuumibwa nate erinnya Yusito, ne Matiya. 44ACT001.024 And they prayed, and said, Thou, Lord, which knowest the hearts of all men, shew whether of these two thou hast chosen, %%% Ne basaba, ne bagamba nti Ggwe, Mukama waffe, amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi, 44ACT001.025 That he may take part of this ministry and apostleship, from which Judas by transgression fell, that he might go to his own place. %%% aweebwe ekifo ky'okuweereza okwo n'obutume, Yuda bwe yasubwa agende mu kifo kye ye. 44ACT001.026 And they gave forth their lots; and the lot fell upon Matthias; and he was numbered with the eleven apostles. %%% Ne babakubira obululu; akalulu ne kagwa ku Matiya; n’abalirwa wamu n'abatume ekkumi n'omu. 44ACT002.001 And when the day of Pentecost was fully come, they were all with one accord in one place. %%% Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu. 44ACT002.002 And suddenly there came a sound from heaven as of a rushing mighty wind, and it filled all the house where they were sitting. %%% Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng'empewo ewuuma n'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. 44ACT002.003 And there appeared unto them cloven tongues like as of fire, and it sat upon each of them. %%% Ne kulabika ku bo ennimi ng'ez'omuliro nga zeeyawuddemu: buli lulimi ne lutuula ku muntu. 44ACT002.004 And they were all filled with the Holy Ghost, and began to speak with other tongues, as the Spirit gave them utterance. %%% Bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne batanula okwogera ennimi endala, nga Omwoyo bwe yabawa okuzoogera. 44ACT002.005 And there were dwelling at Jerusalem Jews, devout men, out of every nation under heaven. %%% Waaliwo mu Yerusaalemi Abayudaaya nga batudde, abantu abeegendereza, abaava mu buli ggwanga ly'abantu wansi w'eggulu. 44ACT002.006 Now when this was noised abroad, the multitude came together, and were confounded, because that every man heard them speak in his own language. %%% Okuwuuma okwo bwe kwabaawo, ekibiina ne kikuŋŋaana ne kisamaalirira, kubanga baawulira buli muntu nga boogera mu lulimi lw'ewaabwe, 44ACT002.007 And they were all amazed and marvelled, saying one to another, Behold, are not all these which speak Galilaeans? %%% Ne bawuniikirira bonna, ne beewuunya, nga boogera nti Laba, bano bonna aboogera si Bagaliraaya. 44ACT002.008 And how hear we every man in our own tongue, wherein we were born? %%% Era kiki ffe buli muntu okuwulira olulimi lw'ewaffe gye twazaalibwa? 44ACT002.009 Parthians, and Medes, and Elamites, and the dwellers in Mesopotamia, and in Judaea, and Cappadocia, in Pontus, and Asia, %%% Abapaazi n'Abameedi, n'Abeeramiti, n'abali mu Mesopotamiya, mu Buyudaaya ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 44ACT002.010 Phrygia, and Pamphylia, in Egypt, and in the parts of Libya about Cyrene, and strangers of Rome, Jews and proselytes, %%% mu Fulugiya ne mu Panfuliya, mu Misiri ne mu nsi ez'e Libuwa eziriraanye Kuleene, n'Abaruumi abagenyi, Abayudaaya n'abakyufu, 44ACT002.011 Cretes and Arabians, we do hear them speak in our tongues the wonderful works of God. %%% Abakuleete n'Abawalabu, tuwulira bano nga boogera mu nnimi zaffe eby'ekitalo ebya Katonda. 44ACT002.012 And they were all amazed, and were in doubt, saying one to another, What meaneth this? %%% Bonna ne beewuunya ne babuusabuusa ne bagambagana nti Amakulu gaakyo kiki kino? 44ACT002.013 Others mocking said, These men are full of new wine. %%% Naye abalala ne babasekerera ne bagamba nti Batamidde omwenge omusu. 44ACT002.014 But Peter, standing up with the eleven, lifted up his voice, and said unto them, Ye men of Judaea, and all ye that dwell at Jerusalem, be this known unto you, and hearken to my words: %%% Naye Peetero bwe yayimirira ne bali ekkumi n'omu, n'ayogerera waggulu n’abagamba nti Abasajja Abayudaaya n'abatuula mu Yerusaalemi mwenna, mutegeere kino, mutegere amatu ebigambo byange. 44ACT002.015 For these are not drunken, as ye suppose, seeing it is but the third hour of the day. %%% Kubanga bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza; kubanga ye ssaawa ey'okusatu ey'emisana. 44ACT002.016 But this is that which was spoken by the prophet Joel; %%% Naye bino bye byayogerwa nnabbi Yoweeri nti 44ACT002.017 And it shall come to pass in the last days, saith God, I will pour out of my Spirit upon all flesh: and your sons and your daughters shall prophesy, and your young men shall see visions, and your old men shall dream dreams: %%% Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Katonda, Ndifuka ku omwoyo gwange ku balina omubiri bonna: Batabani bammwe ne bewala bammwe baliragula, N'abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa, N'abakadde bammwe baliroota ebirooto: 44ACT002.018 And on my servants and on my handmaidens I will pour out in those days of my Spirit; and they shall prophesy: %%% Weewaawo, ne ku baddu bange n'abazaana bange mu nnaku ziri Ndibafukira ku Mwoyo gwange, baliragula. 44ACT002.019 And I will shew wonders in heaven above, and signs in the earth beneath; blood, and fire, and vapour of smoke: %%% Ndireeta eby'ekitalo mu ggulu waggulu N'obubonero mu nsi wansi, Omusaayi n'omuliro n'okunyooka kw'omukka. 44ACT002.020 The sun shall be turned into darkness, and the moon into blood, before that great and notable day of the Lord come: %%% Enjuba erifuuka ekizikiza, N'omwezi okuba omusaayi, Olunaku lwa Mukama Olukulu olulitenderezebwa nga terunnaba kujja. 44ACT002.021 And it shall come to pass, that whosoever shall call on the name of the Lord shall be saved. %%% Olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka. 44ACT002.022 Ye men of Israel, hear these words; Jesus of Nazareth, a man approved of God among you by miracles and wonders and signs, which God did by him in the midst of you, as ye yourselves also know: %%% Abasajja Abaisiraeri, muwulire bigambo bino. Yesu Omunazaaleesi, omuntu eyabalagibwa Katonda mu bigambo eby'amaanyi n'eby'amagero n'obubonero, Katonda bye yamukozanga wakati mu mmwe, nga mmwe bwe mumanyi; 44ACT002.023 Him, being delivered by the determinate counsel and foreknowledge of God, ye have taken, and by wicked hands have crucified and slain: %%% oyo bwe yaweebwayo nga Katonda bwe yasooka okuteesa n'okumanya, mwamutwala ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababi, ne mumutta. 44ACT002.024 Whom God hath raised up, having loosed the pains of death: because it was not possible that he should be holden of it. %%% Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza. 44ACT002.025 For David speaketh concerning him, I foresaw the Lord always before my face, for he is on my right hand, that I should not be moved: %%% Kubanga Dawudi amwogerako nti Nnalaba Mukama ennaku zonna mu maaso gange, Kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo, nneme okusagaasagana. 44ACT002.026 Therefore did my heart rejoice, and my tongue was glad; moreover also my flesh shall rest in hope: %%% Omutima gwange kyegwava gwesiima, olulimi lwange ne lusanyuka; Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi: 44ACT002.027 Because thou wilt not leave my soul in hell, neither wilt thou suffer thine Holy One to see corruption. %%% Kubanga tolindeka bulamu bwange mu Magombe, So toliwaayo Mutukuvu wo kuvunda. 44ACT002.028 Thou hast made known to me the ways of life; thou shalt make me full of joy with thy countenance. %%% Wanjigiriza amakubo g'obulamu; Olinjijuza essanyu n'amaaso go. 44ACT002.029 Men and brethren, let me freely speak unto you of the patriarch David, that he is both dead and buried, and his sepulchre is with us unto this day. %%% Abasajja ab'oluganda, nnyinza okwogerera n'obuvumu mu maaso gammwe ebya jjajjaffe omukulu Dawudi nti yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waffe ne kaakano. 44ACT002.030 Therefore being a prophet, and knowing that God had sworn with an oath to him, that of the fruit of his loins, according to the flesh, he would raise up Christ to sit on his throne; %%% Kale, bwe yali nnabbi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu b'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye; 44ACT002.031 He seeing this before spake of the resurrection of Christ, that his soul was not left in hell, neither his flesh did see corruption. %%% bwe yalaba olubereberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavunda. 44ACT002.032 This Jesus hath God raised up, whereof we all are witnesses. %%% Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, fenna ffe bajulirwa. 44ACT002.033 Therefore being by the right hand of God exalted, and having received of the Father the promise of the Holy Ghost, he hath shed forth this, which ye now see and hear. %%% Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano kye muwulidde. 44ACT002.034 For David is not ascended into the heavens: but he saith himself, The Lord said unto my Lord, Sit thou on my right hand, %%% Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye yayogera yennyini nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, 44ACT002.035 Until I make thy foes thy footstool. %%% Okutuusa lwe nditeeka abalabe bo okuba entebe y'ebigere byo. 44ACT002.036 Therefore let all the house of Israel know assuredly, that God hath made that same Jesus, whom ye have crucified, both Lord and Christ. %%% Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera. 44ACT002.037 Now when they heard this, they were pricked in their heart, and said unto Peter and to the rest of the apostles, Men and brethren, what shall we do? %%% Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya? 44ACT002.038 Then Peter said unto them, Repent, and be baptized every one of you in the name of Jesus Christ for the remission of sins, and ye shall receive the gift of the Holy Ghost. %%% Peetero n'abagamba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu. 44ACT002.039 For the promise is unto you, and to your children, and to all that are afar off, even as many as the LORD our God shall call. %%% Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kwa baana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe. 44ACT002.040 And with many other words did he testify and exhort, saying, Save yourselves from this untoward generation. %%% Era n'abategeeza mu bigambo ebirala bingi n'ababuulirira ng'agamba nti Mulokolebwe mu mirembe gino egyakyama. 44ACT002.041 Then they that gladly received his word were baptized: and the same day there were added unto them about three thousand souls. %%% Awo abakkiriza ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwako ku lunaku luli abantu ng'enkumi ssatu. 44ACT002.042 And they continued steadfastly in the apostles' doctrine and fellowship, and in breaking of bread, and in prayers. %%% Ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba. 44ACT002.043 And fear came upon every soul: and many wonders and signs were done by the apostles. %%% Buli muntu n'atya: eby'amagero bingi n'obubonero ne bikolebwanga abatume. 44ACT002.044 And all that believed were together, and had all things common; %%% Bonna abakkiriza baali wamu, ne baba nga bassa kimu mu byonna, 44ACT002.045 And sold their possessions and goods, and parted them to all men, as every man had need. %%% eby'obugagga byabwe n'ebintu bye baali nabyo ne babitunda ne bagabiranga bonna nga buli muntu bwe yali yeetaaga. 44ACT002.046 And they, continuing daily with one accord in the temple, and breaking bread from house to house, did eat their meat with gladness and singleness of heart, %%% Nabo nga banyiikiriranga bulijjo n'omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nnyumba eka, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa, 44ACT002.047 Praising God, and having favour with all the people. And the Lord added to the church daily such as should be saved. %%% nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna. Mukama n'abongerangako bulijjo abaalokokanga. 44ACT003.001 Now Peter and John went up together into the temple at the hour of prayer, being the ninth hour. %%% Awo Peetero ne Yokaana ne balinnya mu yeekaalu mu ssaawa ey'okusabiramu, essaawa ey'omwenda. 44ACT003.002 And a certain man lame from his mother's womb was carried, whom they laid daily at the gate of the temple which is called Beautiful, to ask alms of them that entered into the temple; %%% Waaliwo omuntu omulema okuva mu lubuto lwa nnyina yali asituliddwa, gwe baateekanga bulijjo ku luggi lwa yeekaalu olwayitibwanga Olulungi, okusabanga effeeza abaayingiranga mu yeekaalu. 44ACT003.003 Who seeing Peter and John about to go into the temple asked an alms. %%% Oyo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n'asaba okuweebwa effeeza. 44ACT003.004 And Peter, fastening his eyes upon him with John, said, Look on us. %%% Peetero awamu ne Yokaana ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n'agamba nti Tutunuulire. 44ACT003.005 And he gave heed unto them, expecting to receive something of them. %%% N'abawulira, ng'alowooza nti banaamuwa ekintu. 44ACT003.006 Then Peter said, Silver and gold have I none; but such as I have give I thee: In the name of Jesus Christ of Nazareth rise up and walk. %%% Naye Peetero n'agamba nti Effeeza ne zaabu sibirina; naye kye nnina kye nkuwa: mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, tambula. 44ACT003.007 And he took him by the right hand, and lifted him up: and immediately his feet and ankle bones received strength. %%% N'amukwata ku mukono ogwa ddyo n'amuyimusa. Amangu ago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi: 44ACT003.008 And he leaping up stood, and walked, and entered with them into the temple, walking, and leaping, and praising God. %%% n'agolokoka mangu n'ayimirira n'atambula, n'ayingira nabo mu yeekaalu ng'atambula ng'abuuka ng'atendereza Katonda. 44ACT003.009 And all the people saw him walking and praising God: %%% Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula ng'atendereza Katonda, 44ACT003.010 And they knew that it was he which sat for alms at the Beautiful gate of the temple: and they were filled with wonder and amazement at that which had happened unto him. %%% ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku luggi Olulungi olwa yeekaalu okusabirizanga effeeza, ne bawuniikirira nnyo n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleddwa. 44ACT003.011 And as the lame man which was healed held Peter and John, all the people ran together unto them in the porch that is called Solomon's, greatly wondering. %%% Bwe yali ng'akyekutte Peetero ne Yokaana, ekibiina kyonna ne baddukana gye baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya nnyo. 44ACT003.012 And when Peter saw it, he answered unto the people, Ye men of Israel, why marvel ye at this? or why look ye so earnestly on us, as though by our own power or holiness we had made this man to walk? %%% Awo Peetero bwe yalaba n'addamu ekibiina nti Abasajja Abaisiraeri, kiki ekibeewuunyisa bino? Mutwekaliririza ki amaaso ng'amaanyi gaffe ffe oba kutya kwaffe Katonda bye bimutambuzizza oyo? 44ACT003.013 The God of Abraham, and of Isaac, and of Jacob, the God of our fathers, hath glorified his Son Jesus; whom ye delivered up, and denied him in the presence of Pilate, when he was determined to let him go. %%% Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza Mulenzi we Yesu, gwe mwawaayo ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato, bwe yamalirira okumuta. 44ACT003.014 But ye denied the Holy One and the Just, and desired a murderer to be granted unto you; %%% Naye mmwe ne mwegaana Omutukuvu era Omutuukirivu, ne mwagala okuweebwa omussi, 44ACT003.015 And killed the Prince of life, whom God hath raised from the dead; whereof we are witnesses. %%% ne mutta Omukulu w'obulamu; oyo Katonda yamuzuukiza mu bafu: ffe bajulirwa baakyo. 44ACT003.016 And his name through faith in his name hath made this man strong, whom ye see and know: yea, the faith which is by him hath given him this perfect soundness in the presence of you all. %%% Era olw'okukkiriza erinnya lye oyo gwe mulaba gwe mumanyi erinnya lye limuwadde amaanyi, n'okukkiriza okuli mu oyo kumuwadde obulamu buno obutuukiridde mu maaso gammwe mwenna. 44ACT003.017 And now, brethren, I wot that through ignorance ye did it, as did also your rulers. %%% Kale kaakano, ab'oluganda, mmanyi nga mwakola nga temumanyi, nga n'abakulu bammwe. 44ACT003.018 But those things, which God before had shewed by the mouth of all his prophets, that Christ should suffer, he hath so fulfilled. %%% Naye Katonda bye yabuulira edda mu kamwa ka bannabbi bonna nga Kristo we alibonyaabonyezebwa, yabituukiriza bw'atyo. 44ACT003.019 Repent ye therefore, and be converted, that your sins may be blotted out, when the times of refreshing shall come from the presence of the Lord; %%% Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby'okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke; 44ACT003.020 And he shall send Jesus Christ, which before was preached unto you: %%% naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, 44ACT003.021 Whom the heaven must receive until the times of restitution of all things, which God hath spoken by the mouth of all his holy prophets since the world began. %%% eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye. 44ACT003.022 For Moses truly said unto the fathers, A prophet shall the Lord your God raise up unto you of your brethren, like unto me; him shall ye hear in all things whatsoever he shall say unto you. %%% Musa yagamba nti Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba. 44ACT003.023 And it shall come to pass, that every soul, which will not hear that prophet, shall be destroyed from among the people. %%% Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga. 44ACT003.024 Yea, and all the prophets from Samuel and those that follow after, as many as have spoken, have likewise foretold of these days. %%% Weewaawo ne bannabbi bonna n'abo okuva ku Samwiri n'abo abaamuddirira, bonna abaayogeranga, baabuuliranga eby'ennaku zino. 44ACT003.025 Ye are the children of the prophets, and of the covenant which God made with our fathers, saying unto Abraham, And in thy seed shall all the kindreds of the earth be blessed. %%% Mmwe muli baana ba bannabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe, ng'agamba Ibulayimu nti Ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi mwe biriweerwa omukisa. 44ACT003.026 Unto you first God, having raised up his Son Jesus, sent him to bless you, in turning away every one of you from his iniquities. %%% Okusooka gye muli Katonda, bwe yamala okuzuukiza Mulenzi we n'amutuma gye muli abawe omukisa, ng'akyusa buli muntu mu bibi byammwe. 44ACT004.001 And as they spake unto the people, the priests, and the captain of the temple, and the Sadducees , came upon them, %%% Bwe baali nga boogera n'ekibiina, ne bajja gye baali bakabona n'omukulu wa yeekaalu n'Abasaddukaayo, 44ACT004.002 Being grieved that they taught the people, and preached through Jesus the resurrection from the dead. %%% nga banakuwadde nnyo kubanga baayigiriza ekibiina era baabuulira ku bwa Yesu okuzuukira mu bafu. 44ACT004.003 And they laid hands on them, and put them in hold unto the next day: for it was now eventide. %%% Ne babassaako emikono ne babassa mu kkomera okutuusa enkya: kubanga bwali buwungedde. 44ACT004.004 Howbeit many of them which heard the word believed; and the number of the men was about five thousand. %%% Naye abamu bangi abaawulira ekigambo ne bakkiriza, omuwendo gw'abasajja ne baba ng'enkumi ttaano. 44ACT004.005 And it came to pass on the morrow, that their rulers, and elders, and scribes, %%% Awo bwe bwakya enkya abakulu n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi: 44ACT004.006 And Annas the high priest, and Caiaphas, and John, and Alexander, and as many as were of the kindred of the high priest, were gathered together at Jerusalem. %%% ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegeezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu: 44ACT004.007 And when they had set them in the midst, they asked, By what power, or by what name, have ye done this? %%% ne babateeka wakati, ne babuuza nti Maanyi ki oba linnya ki eribakoza mmwe ebyo? 44ACT004.008 Then Peter, filled with the Holy Ghost, said unto them, Ye rulers of the people, and elders of Israel, %%% Awo Peetero bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'abagamba nti Abakulu b'abantu n'abakadde, 44ACT004.009 If we this day be examined of the good deed done to the impotent man, by what means he is made whole; %%% bwe tubuulirizibwa leero olw'okukola obulungi omuntu omulwadde, ekimuwonyezza; 44ACT004.010 Be it known unto you all, and to all the people of Israel, that by the name of Jesus Christ of Nazareth, whom ye crucified, whom God raised from the dead, even by him doth this man stand here before you whole. %%% mutegeere mwenna n'ekibiina kyonna eky'Abaisiraeri nti mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe. 44ACT004.011 This is the stone which was set at nought of you builders, which is become the head of the corner. %%% Oyo lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda. 44ACT004.012 Neither is there salvation in any other: for there is none other name under heaven given among men, whereby we must be saved. %%% So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola. 44ACT004.013 Now when they saw the boldness of Peter and John, and perceived that they were unlearned and ignorant men, they marvelled; and they took knowledge of them, that they had been with Jesus. %%% Awo bwe baalaba obugumu bwa Peetero ne Yokaana, ne babategeera okuba abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo, ne beewuunya, ne babeetegereza nga baali wamu ne Yesu. 44ACT004.014 And beholding the man which was healed standing with them, they could say nothing against it. %%% Era bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo, tebaalina kya kuddamu. 44ACT004.015 But when they had commanded them to go aside out of the council, they conferred among themselves, %%% Naye ne balagira bave mu lukiiko, ne basala amagezi bokka nga bagamba nti 44ACT004.016 Saying, What shall we do to these men? for that indeed a notable miracle hath been done by them is manifest to all them that dwell in Jerusalem; and we cannot deny it. %%% Tunaakola tutya abantu bano? Kubanga bakoze akabonero akayatiikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana. 44ACT004.017 But that it spread no further among the people, let us straitly threaten them, that they speak henceforth to no man in this name. %%% Naye kireme okwongeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna. 44ACT004.018 And they called them, and commanded them not to speak at all nor teach in the name of Jesus. %%% Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu. 44ACT004.019 But Peter and John answered and said unto them, Whether it be right in the sight of God to hearken unto you more than unto God, judge ye. %%% Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu ne babagamba nti Oba nga kirungi mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda, mwogere; 44ACT004.020 For we cannot but speak the things which we have seen and heard. %%% kubanga ffe tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba bye twawulira. 44ACT004.021 So when they had further threatened them, they let them go, finding nothing how they might punish them, because of the people: for all men glorified God for that which was done. %%% Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibiina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa. 44ACT004.022 For the man was above forty years old, on whom this miracle of healing was shewed. %%% Kubanga obukulu bwe yali ayise mu myaka amakumi ana omuntu eyakolerwa akabonero kano ak'okuwonyezebwa. 44ACT004.023 And being let go, they went to their own company, and reported all that the chief priests and elders had said unto them. %%% Bwe baateebwa ne bagenda mu kibiina kyabwe, ne bategeeza byonna bye bagambiddwa bakabona abakulu n'abakadde. 44ACT004.024 And when they heard that, they lifted up their voice to God with one accord, and said, Lord, thou art God, which hast made heaven, and earth, and the sea, and all that in them is: %%% Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna, 44ACT004.025 Who by the mouth of thy servant David hast said, Why did the heathen rage, and the people imagine vain things? %%% ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi mulenzi wo nti Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, N'ebika birowoozezza ebitaliimu? 44ACT004.026 The kings of the earth stood up, and the rulers were gathered together against the Lord, and against his Christ. %%% Bakabaka b'ensi baasimba ennyiriri, N'abakulu baakuŋŋaanira wamu Ku Mukama ne ku Kristo we: 44ACT004.027 For of a truth against thy holy child Jesus, whom thou hast anointed, both Herod, and Pontius Pilate, with the Gentiles, and the people of Israel, were gathered together, %%% Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku Mulenzi wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri, 44ACT004.028 For to do whatsoever thy hand and thy counsel determined before to be done. %%% bakole byonna omukono gwo n'okuteesa kwo bye byalagira edda okubaawo. 44ACT004.029 And now, Lord, behold their threatenings: and grant unto thy servants, that with all boldness they may speak thy word, %%% Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo, 44ACT004.030 By stretching forth thine hand to heal; and that signs and wonders may be done by the name of thy holy child Jesus. %%% bw'ogolola omukono gwo owonye, n'obubonero n'amagero bikolebwenga mu linnya lya Mulenzi wo omutukuvu Yesu. 44ACT004.031 And when they had prayed, the place was shaken where they were assembled together; and they were all filled with the Holy Ghost, and they spake the word of God with boldness. %%% Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu. 44ACT004.032 And the multitude of them that believed were of one heart and of one soul: neither said any of them that ought of the things which he possessed was his own; but they had all things common. %%% N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu ky'alina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu. 44ACT004.033 And with great power gave the apostles witness of the resurrection of the Lord Jesus: and great grace was upon them all. %%% N'amaanyi mangi abatume ne boogeranga okutegeeza kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. N'ekisa kingi ne kibeeranga ku bo bonna. 44ACT004.034 Neither was there any among them that lacked: for as many as were possessors of lands or houses sold them, and brought the prices of the things that were sold, %%% Kubanga tewaali mu bo eyeetaaganga; kubanga bonna abaalina ensuku oba ennyumba baazitundanga ne baleeta omuwendo gwazo ezaatundibwanga, 44ACT004.035 And laid them down at the apostles' feet: and distribution was made unto every man according as he had need. %%% ne baguteeka ku bigere by'abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga. 44ACT004.036 And Joses, who by the apostles was surnamed Barnabas, (which is, being interpreted, The son of consolation,) a Levite, and of the country of Cyprus, %%% Ne Yusufu abatume gwe baayita Balunabba (okutegeezebwa kwalyo nti) Mwana wa ssannyu Omuleevi, eyazaalirwa e Kupulo, 44ACT004.037 Having land, sold it, and brought the money, and laid it at the apostles' feet. %%% yalina ennimiro, n'agitunda n'aleeta effeeza n'agiteeka ku bigere by'abatume. 44ACT005.001 But a certain man named Ananias, with Sapphira his wife, sold a possession, %%% Naye omuntu erinnya lye Ananiya ne Safira mukazi we n'atunda ebibye, 44ACT005.002 And kept back part of the price, his wife also being privy to it, and brought a certain part, and laid it at the apostles' feet. %%% ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng'amanyi, n'aleetako kitundu butundu n'ateeka ku bigere by'abatume. 44ACT005.003 But Peter said, Ananias, why hath Satan filled thine heart to lie to the Holy Ghost, and to keep back part of the price of the land? %%% Naye Peetero n'agamba nti Ananiya, Setaani akujjulizza ki omutima gwo okulimba Omwoyo Omutukuvu, ne weeterekerako ku muwendo gw'ennimiro? 44ACT005.004 Whiles it remained, was it not thine own? and after it was sold, was it not in thine own power? why hast thou conceived this thing in thine heart? thou hast not lied unto men, but unto God. %%% Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Kiki ekikuteesezza mu mutima okukola bw'oti? Tolimbye bantu, naye Katonda. 44ACT005.005 And Ananias hearing these words fell down, and gave up the ghost: and great fear came on all them that heard these things. %%% Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agwa n'atondoka. Entiisa nnyingi n'ekwata bonna abaawulira ebyo. 44ACT005.006 And the young men arose, wound him up, and carried him out, and buried him. %%% Abalenzi ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika. 44ACT005.007 And it was about the space of three hours after, when his wife, not knowing what was done, came in. %%% Awo olwatuuka waali wayiseewo essaawa ssatu mukazi we naye n'ayingira nga tamanyi bwe bibadde. 44ACT005.008 And Peter answered unto her, Tell me whether ye sold the land for so much? And she said, Yea, for so much. %%% Peetero n'amuddamu nti Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe gutyo? N'agamba nti Weewaawo, bwe guti. 44ACT005.009 Then Peter said unto her, How is it that ye have agreed together to tempt the Spirit of the Lord? behold, the feet of them which have buried thy husband are at the door, and shall carry thee out. %%% Naye Peetero n'amugamba nti Kiki ekibatabaganyizza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe. 44ACT005.010 Then fell she down straightway at his feet, and yielded up the ghost: and the young men came in, and found her dead, and, carrying her forth, buried her by her husband. %%% Amangu ago n'agwa ku bigere bye, n'atondoka: abalenzi bwe baayingira ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika wamu ne bba. 44ACT005.011 And great fear came upon all the church, and upon as many as heard these things. %%% Entiisa nnene n'ekwata ekkanisa yonna ne bonna abaawulira ebyo. 44ACT005.012 And by the hands of the apostles were many signs and wonders wrought among the people; (and they were all with one accord in Solomon's porch. %%% Obubonero n'eby'amagero bingi ne bikolebwanga n'emikono gy'abatume mu bantu; bonna baali mu kisasi kya Sulemaani n'omwoyo gumu. 44ACT005.013 And of the rest durst no man join himself to them: but the people magnified them. %%% So n'abalala tewaali n'omu eyayaŋŋanga okwegatta nabo; naye abantu ne babagulumizanga; 44ACT005.014 And believers were the more added to the Lord, multitudes both of men and women.) %%% abakkiriza ne beeyongeranga okwegatta ne Mukama waffe, bangi abasajja n'abakazi; 44ACT005.015 Insomuch that they brought forth the sick into the streets, and laid them on beds and couches, that at the least the shadow of Peter passing by might overshadow some of them. %%% n'okuleeta ne baleetanga mu makubo abalwadde ne babateekanga ku mikeeka ne ku bitanda, Peetero bw'anajja ekisiikirize kye kituuke ku bamu. 44ACT005.016 There came also a multitude out of the cities round about unto Jerusalem, bringing sick folks, and them which were vexed with unclean spirits: and they were healed every one. %%% Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna. 44ACT005.017 Then the high priest rose up, and all they that were with him, (which is the sect of the Sadducees ,) and were filled with indignation, %%% Naye n'ayimuka kabona asinga obukulu ne bonna abaali naye (kye kitundu eky'Abasaddukaayo), ne bajjula obuggya, 44ACT005.018 And laid their hands on the apostles, and put them in the common prison. %%% ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly'abantu bonna. 44ACT005.019 But the angel of the Lord by night opened the prison doors, and brought them forth, and said, %%% Naye malayika wa Mukama ekiro n'aggulawo enzigi ez'ekkomera, n'abafulumya, n'agamba nti 44ACT005.020 Go, stand and speak in the temple to the people all the words of this life. %%% Mugende, muyimirire, mubuulire mu yeekaalu abantu ebigambo byonna eby'obulamu buno. 44ACT005.021 And when they heard that, they entered into the temple early in the morning, and taught. But the high priest came, and they that were with him, and called the council together, and all the senate of the children of Israel, and sent to the prison to have them brought. %%% Bwe baawulira ne bayingira mu yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n'ajja n'abaali naye, n'ayita olukiiko n'abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu kkomera okubaleeta. 44ACT005.022 But when the officers came, and found them not in the prison, they returned, and told, %%% Naye abaami abaagenda tebaabasanga mu kkomera, ne bakomawo, ne boogera 44ACT005.023 Saying, The prison truly found we shut with all safety, and the keepers standing without before the doors: but when we had opened, we found no man within. %%% nga bagamba nti Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu. 44ACT005.024 Now when the high priest and the captain of the temple and the chief priests heard these things, they doubted of them whereunto this would grow. %%% Bwe baawulira ebigambo ebyo omukulu wa yeekaalu ne bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kijja okubuna. 44ACT005.025 Then came one and told them, saying, Behold, the men whom ye put in prison are standing in the temple, and teaching the people. %%% Omuntu n'ajja n'ababuulira nti Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu. 44ACT005.026 Then went the captain with the officers, and brought them without violence: for they feared the people, lest they should have been stoned. %%% Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja. 44ACT005.027 And when they had brought them, they set them before the council: and the high priest asked them, %%% Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuuza 44ACT005.028 Saying, Did not we straitly command you that ye should not teach in this name? and, behold, ye have filled Jerusalem with your doctrine, and intend to bring this man's blood upon us. %%% ng'agamba nti Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo. 44ACT005.029 Then Peter and the other apostles answered and said, We ought to obey God rather than men. %%% Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu. 44ACT005.030 The God of our fathers raised up Jesus, whom ye slew and hanged on a tree. %%% Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe bwe mwamuwanika ku muti. 44ACT005.031 Him hath God exalted with his right hand to be a Prince and a Saviour, for to give repentance to Israel, and forgiveness of sins. %%% Oyo Katonda yamulinnyisa ku mukono gwe ogwa ddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okuggibwako ebibi: 44ACT005.032 And we are his witnesses of these things; and so is also the Holy Ghost, whom God hath given to them that obey him. %%% naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera. 44ACT005.033 When they heard that, they were cut to the heart, and took counsel to slay them. %%% Naye bo bwe baawulira ne balumwa nnyo, ne baagala okubatta. 44ACT005.034 Then stood there up one in the council, a Pharisee, named Gamaliel, a doctor of the law, had in reputation among all the people, and commanded to put the apostles forth a little space; %%% Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera: 44ACT005.035 And said unto them, Ye men of Israel, take heed to yourselves what ye intend to do as touching these men. %%% n'abagamba nti Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby'abantu bano, kye mugenda okubakolako. 44ACT005.036 For before these days rose up Theudas, boasting himself to be somebody; to whom a number of men, about four hundred, joined themselves: who was slain; and all, as many as obeyed him, were scattered, and brought to nought. %%% Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti ye muntu omukulu, abantu nga bikumi bina ne beegatta naye: n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma. 44ACT005.037 After this man rose up Judas of Galilee in the days of the taxing, and drew away much people after him: he also perished; and all, even as many as obeyed him, were dispersed. %%% Oluvannyuma lwe n'agolokoka Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana. 44ACT005.038 And now I say unto you, Refrain from these men, and let them alone: for if this counsel or this work be of men, it will come to nought: %%% Ne kaakano mbagamba nti Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira; 44ACT005.039 But if it be of God, ye cannot overthrow it; lest haply ye be found even to fight against God. %%% naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda. 44ACT005.040 And to him they agreed: and when they had called the apostles, and beaten them, they commanded that they should not speak in the name of Jesus, and let them go. %%% Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne balagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata. 44ACT005.041 And they departed from the presence of the council, rejoicing that they were counted worthy to suffer shame for his name. %%% Awo ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw'Erinnya. 44ACT005.042 And daily in the temple, and in every house, they ceased not to teach and preach Jesus Christ. %%% Buli lunaku mu yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo. 44ACT006.001 And in those days, when the number of the disciples was multiplied, there arose a murmuring of the Grecians against the Hebrews, because their widows were neglected in the daily ministration. %%% Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe baabafissanga mu kuweereza okwa bulijjo. 44ACT006.002 Then the twelve called the multitude of the disciples unto them, and said, It is not reason that we should leave the word of God, and serve tables. %%% Ekkumi n'ababiri ne bayita ekibiina ky'abayigirizwa, ne bagamba nti Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza. 44ACT006.003 Wherefore, brethren, look ye out among you seven men of honest report, full of the Holy Ghost and wisdom, whom we may appoint over this business. %%% Kale, ab'oluganda, mulonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde Omwoyo Omutukuvu n'amagezi, be tunaateeka ku mulimu guno; 44ACT006.004 But we will give ourselves continually to prayer, and to the ministry of the word. %%% naye ffe tunaanyiikiranga mu kusaba n'okuweereza ekigambo. 44ACT006.005 And the saying pleased the whole multitude: and they chose Stephen, a man full of faith and of the Holy Ghost, and Philip, and Prochorus, and Nicanor, and Timon, and Parmenas, and Nicolas a proselyte of Antioch: %%% Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maaso g'ekibiina kyonna; ne balonda Suteefano, omuntu eyajjula okukkiriza n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e Antiyokiya; 44ACT006.006 Whom they set before the apostles: and when they had prayed, they laid their hands on them. %%% ne babateeka mu maaso g'abatume; ne basaba, ne babassaako emikono. 44ACT006.007 And the word of God increased; and the number of the disciples multiplied in Jerusalem greatly; and a great company of the priests were obedient to the faith. %%% Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw'abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza. 44ACT006.008 And Stephen, full of faith and power, did great wonders and miracles among the people. %%% Suteefano bwe yajjula ekisa n'amaanyi n'akolanga amagero n'obubonero obunene mu bantu. 44ACT006.009 Then there arose certain of the synagogue, which is called the synagogue of the Libertines, and Cyrenians, and Alexandrians, and of them of Cilicia and of Asia, disputing with Stephen. %%% Naye ne bayimuka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abalibettino, n'ery'Abakuleene n'ery'Abalegezanderiya n'ery'Abakirukiya n'ery'Abasiya, nga bawakana ne Suteefano: 44ACT006.010 And they were not able to resist the wisdom and the spirit by which he spake. %%% so tebaayinza kusobola magezi n'Omwoyo bye yayogeza. 44ACT006.011 Then they suborned men, which said, We have heard him speak blasphemous words against Moses, and against God. %%% Awo ne baweerera abantu abaagamba nti Twawulira oyo ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda. 44ACT006.012 And they stirred up the people, and the elders, and the scribes, and came upon him, and caught him, and brought him to the council, %%% Ne bakubiriza abantu, n'abakadde n'abawandiisi, ne bajja gy'ali, ne bamukwata, ne bamutwala mu lukiiko, 44ACT006.013 And set up false witnesses, which said, This man ceaseth not to speak blasphemous words against this holy place, and the law: %%% ne bayimiriza abajulirwa ab'obulimba abaagamba nti Omuntu oyo taleka kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu n'amateeka: 44ACT006.014 For we have heard him say, that this Jesus of Nazareth shall destroy this place, and shall change the customs which Moses delivered us. %%% kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaaleesi oyo alizikiriza ekifo kino, aliwaanyisa n'empisa ze twaweebwa Musa. 44ACT006.015 And all that sat in the council, looking stedfastly on him, saw his face as it had been the face of an angel. %%% Bwe baamwekaliriza amaaso, bonna abaali batudde mu lukiiko ne bamulaba amaaso ge nga gafaanana ng'aga malayika. 44ACT007.001 Then said the high priest, Are these things so? %%% Kabona asinga obukulu n'ayogera nti Ebyo bwe biri bwe bityo? 44ACT007.002 And he said, Men, brethren, and fathers, hearken; The God of glory appeared unto our father Abraham, when he was in Mesopotamia, before he dwelt in Charran, %%% Suteefano n'agamba nti Abasajja ab'oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani, 44ACT007.003 And said unto him, Get thee out of thy country, and from thy kindred, and come into the land which I shall shew thee. %%% n'amugamba nti Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga. 44ACT007.004 Then came he out of the land of the Chaldaeans, and dwelt in Charran: and from thence, when his father was dead, he removed him into this land, wherein ye now dwell. %%% Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n'amuggyayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutudde mmwe kaakano; 44ACT007.005 And he gave him none inheritance in it, no, not so much as to set his foot on: yet he promised that he would give it to him for a possession, and to his seed after him, when as yet he had no child. %%% so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana. 44ACT007.006 And God spake on this wise, That his seed should sojourn in a strange land; and that they should bring them into bondage, and entreat them evil four hundred years. %%% Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakolera obubi emyaka bikumi bina. 44ACT007.007 And the nation to whom they shall be in bondage will I judge, said God: and after that shall they come forth, and serve me in this place. %%% N'eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n'oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino. 44ACT007.008 And he gave him the covenant of circumcision: and so Abraham begat Isaac, and circumcised him the eighth day; and Isaac begat Jacob; and Jacob begat the twelve patriarchs. %%% N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri. 44ACT007.009 And the patriarchs, moved with envy, sold Joseph into Egypt: but God was with him, %%% Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abeeranga naye, 44ACT007.010 And delivered him out of all his afflictions, and gave him favour and wisdom in the sight of Pharaoh king of Egypt; and he made him governor over Egypt and all his house. %%% n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna. 44ACT007.011 Now there came a dearth over all the land of Egypt and Chanaan, and great affliction: and our fathers found no sustenance. %%% Enjala n'egwa ku nsi yonna ey'e Misiri n'eya Kanani, n'ellnaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe. 44ACT007.012 But when Jacob heard that there was corn in Egypt, he sent out our fathers first. %%% Naye Yakobo bwe yawulira ng'emmere enkalu eri Misiri, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogw'olubereberye: 44ACT007.013 And at the second time Joseph was made known to his brethren; and Joseph's kindred was made known unto Pharaoh. %%% n'omulundi ogw'okubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo. 44ACT007.014 Then sent Joseph, and called his father Jacob to him, and all his kindred, threescore and fifteen souls. %%% Yusufu n'atuma n'ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano. 44ACT007.015 So Jacob went down into Egypt, and died, he, and our fathers, %%% Yakobo n'akkirira e Misiri, n'afiirayo, ye ne bajjajjaffe; 44ACT007.016 And were carried over into Sychem, and laid in the sepulchre that Abraham bought for a sum of money of the sons of Emmor the father of Sychem. %%% ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw'effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu. 44ACT007.017 But when the time of the promise drew nigh, which God had sworn to Abraham, the people grew and multiplied in Egypt, %%% Naye ng'ebiro eby'okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri, 44ACT007.018 Till another king arose, which knew not Joseph. %%% okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu. 44ACT007.019 The same dealt subtilly with our kindred, and evil entreated our fathers, so that they cast out their young children, to the end they might not live. %%% Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu. 44ACT007.020 In which time Moses was born, and was exceeding fair, and nourished up in his father's house three months: %%% Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe. 44ACT007.021 And when he was cast out, Pharaoh's daughter took him up, and nourished him for her own son. %%% Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we. 44ACT007.022 And Moses was learned in all the wisdom of the Egyptians, and was mighty in words and in deeds. %%% Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonna ag'e Misiri; n'abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye. 44ACT007.023 And when he was full forty years old, it came into his heart to visit his brethren the children of Israel. %%% Naye obukulu bwe yali alitera okutuusa emyaka amakumi ana, n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri. 44ACT007.024 And seeing one of them suffer wrong, he defended him, and avenged him that was oppressed, and smote the Egyptian: %%% Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n'amutaasa, n'amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n'akuba Omumisiri. 44ACT007.025 For he supposed his brethren would have understood how that God by his hand would deliver them: but they understood not. %%% N'alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera. 44ACT007.026 And the next day he shewed himself unto them as they strove, and would have set them at one again, saying, Sirs, ye are brethren; why do ye wrong one to another? %%% Nate ku lunaku olw'okubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka? 44ACT007.027 But he that did his neighbour wrong thrust him away, saying, Who made thee a ruler and a judge over us? %%% Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe? 44ACT007.028 Wilt thou kill me, as thou diddest the Egyptian yesterday? %%% Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jjo? 44ACT007.029 Then fled Moses at this saying, and was a stranger in the land of Madian, where he begat two sons. %%% Musa n'adduka olw'ekigambo ekyo, n'abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab'obulenzi. 44ACT007.030 And when forty years were expired, there appeared to him in the wilderness of mount Sina an angel of the Lord in a flame of fire in a bush. %%% Awo emyaka amakumi ana bwe gyatuuka, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi. 44ACT007.031 When Moses saw it, he wondered at the sight: and as he drew near to behold it, the voice of the LORD came unto him, %%% Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama nti 44ACT007.032 Saying, I am the God of thy fathers, the God of Abraham, and the God of Isaac, and the God of Jacob. Then Moses trembled, and durst not behold. %%% Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira. 44ACT007.033 Then said the Lord to him, Put off thy shoes from thy feet: for the place where thou standest is holy ground. %%% Mukama n'amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyimiridde watukuvu. 44ACT007.034 I have seen, I have seen the affliction of my people which is in Egypt, and I have heard their groaning, and am come down to deliver them. And now come, I will send thee into Egypt. %%% Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri. 44ACT007.035 This Moses whom they refused, saying, Who made thee a ruler and a judge? the same did God send to be a ruler and a deliverer by the hand of the angel which appeared to him in the bush. %%% Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka. 44ACT007.036 He brought them out, after that he had shewed wonders and signs in the land of Egypt, and in the Red sea, and in the wilderness forty years. %%% Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka amakumi ana. 44ACT007.037 This is that Moses, which said unto the children of Israel, A prophet shall the Lord your God raise up unto you of your brethren, like unto me; him shall ye hear. %%% Oyo ye Musa oli eyagamba abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze. 44ACT007.038 This is he, that was in the church in the wilderness with the angel which spake to him in the mount Sina, and with our fathers: who received the lively oracles to give unto us: %%% Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe: 44ACT007.039 To whom our fathers would not obey, but thrust him from them, and in their hearts turned back again into Egypt, %%% bajjajjaffe gwe bataayagala kuwulira, naye baamusindika eri, ne baddayo e Misiri mu mitima gyabwe, 44ACT007.040 Saying unto Aaron, Make us gods to go before us: for as for this Moses, which brought us out of the land of Egypt, we wot not what is become of him. %%% nga bagamba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitukulembera: kubanga Musa oyo, eyatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. 44ACT007.041 And they made a calf in those days, and offered sacrifice unto the idol, and rejoiced in the works of their own hands. %%% Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe. 44ACT007.042 Then God turned, and gave them up to worship the host of heaven; as it is written in the book of the prophets, O ye house of Israel, have ye offered to me slain beasts and sacrifices by the space of forty years in the wilderness? %%% Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka Emyaka amakumi ana mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri? 44ACT007.043 Yea, ye took up the tabernacle of Moloch, and the star of your god Remphan, figures which ye made to worship them: and I will carry you away beyond Babylon. %%% Ne musitula eweema ya Moloki, N'emmunyeenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga: Nange ndibatwala ennyuma w’e Babbulooni. 44ACT007.044 Our fathers had the tabernacle of witness in the wilderness, as he had appointed, speaking unto Moses, that he should make it according to the fashion that he had seen. %%% N'eweema ey'obujulirwa yali ne bajjajjaffe mu ddungu, nga bwe yalagira eyagamba Musa okugikola ng'engeri gye yalaba bwe yali: 44ACT007.045 Which also our fathers that came after brought in with Jesus into the possession of the Gentiles, whom God drave out before the face of our fathers, unto the days of David; %%% bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi; 44ACT007.046 Who found favour before God, and desired to find a tabernacle for the God of Jacob. %%% eyasiimibwa mu maaso ga Katonda, n'asaba okumunoonyeza aw'okutuuza Katonda wa Yakobo. 44ACT007.047 But Solomon built him an house. %%% Naye Sulemaani n'amuzimbira ennyumba. 44ACT007.048 Howbeit the most High dwelleth not in temples made with hands; as saith the prophet, %%% Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n'emikono; nga nnabbi bw'ayogera nti 44ACT007.049 Heaven is my throne, and earth is my footstool: what house will ye build me? saith the Lord: or what is the place of my rest? %%% Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira? 44ACT007.050 Hath not my hand made all these things? %%% Omukono gwange si gwe gwabikola ebyo byonna? 44ACT007.051 Ye stiffnecked and uncircumcised in heart and ears, ye do always resist the Holy Ghost: as your fathers did, so do ye. %%% Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajja bammwe, nammwe bwe mutyo. 44ACT007.052 Which of the prophets have not your fathers persecuted? and they have slain them which shewed before of the coming of the Just One; of whom ye have been now the betrayers and murderers: %%% Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta; 44ACT007.053 Who have received the law by the disposition of angels, and have not kept it. %%% mmwe abaaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwata. 44ACT007.054 When they heard these things, they were cut to the heart, and they gnashed on him with their teeth. %%% Awo bwe baawulira ebyo ne balumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji. 44ACT007.055 But he, being full of the Holy Ghost, looked up stedfastly into heaven, and saw the glory of God, and Jesus standing on the right hand of God, %%% Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; 44ACT007.056 And said, Behold, I see the heavens opened, and the Son of man standing on the right hand of God. %%% n'agamba nti Laba, ntunuulidde eggulu nga libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 44ACT007.057 Then they cried out with a loud voice, and stopped their ears, and ran upon him with one accord, %%% Ne baleekaana n'eddoboozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n'omwoyo gumu, 44ACT007.058 And cast him out of the city, and stoned him: and the witnesses laid down their clothes at a young man's feet, whose name was Saul. %%% ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by'omulenzi, erinnya lye Sawulo. 44ACT007.059 And they stoned Stephen, calling upon God, and saying, Lord Jesus, receive my spirit. %%% Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n'agamba nti Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange. 44ACT007.060 And he kneeled down, and cried with a loud voice, Lord, lay not this sin to their charge. And when he had said this, he fell asleep. %%% N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Mukama wange, tobabalira kibi kino. Bwe yamala okwogera ebyo ne yeebaka. 44ACT008.001 And Saul was consenting unto his death. And at that time there was a great persecution against the church which was at Jerusalem; and they were all scattered abroad throughout the regions of Judaea and Samaria, except the apostles. %%% Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z'e Buyudaaya n'e Samaliya, wabula abatume. 44ACT008.002 And devout men carried Stephen to his burial, and made great lamentation over him. %%% Abantu abaatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukaabira nnyo. 44ACT008.003 As for Saul, he made havock of the church, entering into every house, and haling men and women committed them to prison. %%% Naye Sawulo n'agirira ekkanisa ekyejo kingi, ng'ayingira mu buli nju, ng'awalula abasajja n'abakazi n'abateeka mu kkomera. 44ACT008.004 Therefore they that were scattered abroad went every where preaching the word. %%% Awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo. 44ACT008.005 Then Philip went down to the city of Samaria, and preached Christ unto them. %%% Firipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samaliya, n'ababuulira Kristo. 44ACT008.006 And the people with one accord gave heed unto those things which Philip spake, hearing and seeing the miracles which he did. %%% Ebibiina ne biwulira n'omwoyo gumu ebigambo Firipo by'ayogedde, bwe baawulira ne balaba eby'amagero ge yakolanga. 44ACT008.007 For unclean spirits, crying with loud voice, came out of many that were possessed with them: and many taken with palsies, and that were lame, were healed. %%% Kubanga bangi ku bo abaaliko dayimooni, ne babavangako nga bakaaba n'eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n'abalema. 44ACT008.008 And there was great joy in that city. %%% Essanyu lingi ne libeera mu kibuga omwo. 44ACT008.009 But there was a certain man, called Simon, which beforetime in the same city used sorcery, and bewitched the people of Samaria, giving out that himself was some great one: %%% Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eggwanga ly'e Samaliya, ng'agamba nti ye mukulu; 44ACT008.010 To whom they all gave heed, from the least to the greatest, saying, This man is the great power of God. %%% ne bamuwuliranga bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, nga bagamba nti Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amangi. 44ACT008.011 And to him they had regard, because that of long time he had bewitched them with sorceries. %%% Ne bamuwuliranga, kubanga ennaku nnyingi yabawuniikirizanga n'okuloga kwe. 44ACT008.012 But when they believed Philip preaching the things concerning the kingdom of God, and the name of Jesus Christ, they were baptized, both men and women. %%% Naye bwe bakkiriza Firipo ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n'abakazi. 44ACT008.013 Then Simon himself believed also: and when he was baptized, he continued with Philip, and wondered, beholding the miracles and signs which were done. %%% Era ne Simooni yennyini n'akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n'abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya. 44ACT008.014 Now when the apostles which were at Jerusalem heard that Samaria had received the word of God, they sent unto them Peter and John: %%% Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nga e Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 44ACT008.015 Who, when they were come down, prayed for them, that they might receive the Holy Ghost: %%% Nabo bwe baatuuka ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu: 44ACT008.016 (For as yet he was fallen upon none of them: only they were baptized in the name of the Lord Jesus.) %%% kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 44ACT008.017 Then laid they their hands on them, and they received the Holy Ghost. %%% Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu. 44ACT008.018 And when Simon saw that through laying on of the apostles' hands the Holy Ghost was given, he offered them money, %%% Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza 44ACT008.019 Saying, Give me also this power, that on whomsoever I lay hands, he may receive the Holy Ghost. %%% ng'agamba nti Mumpe nange obuyinza buno buli gwe nnassangako emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu. 44ACT008.020 But Peter said unto him, Thy money perish with thee, because thou hast thought that the gift of God may be purchased with money. %%% Naye Peetero n'amugamba nti Effeeza yo ezikirire naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda n'ebintu. 44ACT008.021 Thou hast neither part nor lot in this matter: for thy heart is not right in the sight of God. %%% Tolina mugabo newakubadde okugabana mu kigambo kino: kubanga omutima gwo si mugolokofu mu maaso ga Katonda. 44ACT008.022 Repent therefore of this thy wickedness, and pray God, if perhaps the thought of thine heart may be forgiven thee. %%% Kale weenenye obubi bwo obwo, osabe Mukama waffe, mpozzi olisonyiyibwa ekirowoozo eky'omu mutima gwo. 44ACT008.023 For I perceive that thou art in the gall of bitterness, and in the bond of iniquity. %%% Kubanga nkulaba oli mu mususa ogukaawa ne mu nvuba y'obubi. 44ACT008.024 Then answered Simon, and said, Pray ye to the LORD for me, that none of these things which ye have spoken come upon me. %%% Simooni n'addamu n'agamba nti Munsabire mmwe eri Mukama ebigambo ebyo bye mwogedde bireme okumbaako n'ekimu. 44ACT008.025 And they, when they had testified and preached the word of the Lord, returned to Jerusalem, and preached the gospel in many villages of the Samaritans. %%% Awo bwe baamala okutegeeza n'okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira enjiri mu mbuga nnyingi ez'Abasamaliya. 44ACT008.026 And the angel of the Lord spake unto Philip, saying, Arise, and go toward the south unto the way that goeth down from Jerusalem unto Gaza, which is desert. %%% Naye malayika wa Mukama n'agamba Firipo ng'ayogera nti Golokoka, ogende obukiika obwa ddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza: ekkubo eryo lya ddungu. 44ACT008.027 And he arose and went: and, behold, a man of Ethiopia, an eunuch of great authority under Candace queen of the Ethiopians, who had the charge of all her treasure, and had come to Jerusalem for to worship, %%% N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza, 44ACT008.028 Was returning, and sitting in his chariot read Esaias the prophet. %%% yali addayo n'atuula mu ggaali lye, n'asoma nnabi Isaaya. 44ACT008.029 Then the Spirit said unto Philip, Go near, and join thyself to this chariot. %%% Omwoyo n'agamba Firipo nti Sembera, weegatte n'eggaali eryo. 44ACT008.030 And Philip ran thither to him, and heard him read the prophet Esaias, and said, Understandest thou what thou readest? %%% N'addukana Firipo n'amuwulira ng'asoma nnabbi Isaaya, n'agamba nti Obitegedde by'osoma? 44ACT008.031 And he said, How can I, except some man should guide me? And he desired Philip that he would come up and sit with him. %%% N'agamba nti Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira? Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye. 44ACT008.032 The place of the scripture which he read was this, He was led as a sheep to the slaughter; and like a lamb dumb before his shearer, so opened he not his mouth: %%% Mu kifo awaawandiikibwa we yali asoma we wagamba nti Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga, Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika, Bwekityo teyayasamya kamwa ke: 44ACT008.033 In his humiliation his judgment was taken away: and who shall declare his generation? for his life is taken from the earth. %%% Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo: Ekika kye ani alikinnyonnyola? Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi. 44ACT008.034 And the eunuch answered Philip, and said, I pray thee, of whom speaketh the prophet this? of himself, or of some other man? %%% Omulaawe n'addamu Firipo n'agamba nti Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Bibye yekka oba bya muntu mulala? 44ACT008.035 Then Philip opened his mouth, and began at the same scripture, and preached unto him Jesus. %%% Firipo n'ayasama akamwa ke n'asookera ku kyawandiikibwa kino n'amubuulira Yesu. 44ACT008.036 And as they went on their way, they came unto a certain water: and the eunuch said, See, here is water; what doth hinder me to be baptized? %%% Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa? 44ACT008.037 And Philip said, If thou believest with all thine heart, thou mayest. And he answered and said, I believe that Jesus Christ is the Son of God. %%% (Firipo n'agamba nti Oba ng'okkirizza n'omutima gwo gwonna, kirungi. N'addamu n'agamba nti Nzikirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.) 44ACT008.038 And he commanded the chariot to stand still: and they went down both into the water, both Philip and the eunuch; and he baptized him. %%% N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi. Firipo n'omulaawe; n'amubatiza. 44ACT008.039 And when they were come up out of the water, the Spirit of the Lord caught away Philip, that the eunuch saw him no more: and he went on his way rejoicing. %%% Bwe baava mu mazzi, Omwoyo gwa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'atamulaba nate: kubanga yagenda ng'asanyuka. 44ACT008.040 But Philip was found at Azotus: and passing through he preached in all the cities, till he came to Caesarea. %%% Naye Firipo yalabikira mu Azoto: bwe yayita n'abuulira mu bibuga byonna okutuuka e Kayisaliya. 44ACT009.001 And Saul, yet breathing out threatenings and slaughter against the disciples of the Lord, went unto the high priest, %%% Naye Sawulo bwe yali akyayogera ebigambo eby'okukanga n'eby'okutta abayigirizwa ba Mukama waffe, n'agenda eri kabona asinga obukulu, 44ACT009.002 And desired of him letters to Damascus to the synagogues, that if he found any of this way, whether they were men or women, he might bring them bound unto Jerusalem. %%% n'amusaba ebbaluwa ez'okugenda e Ddamasiko, eri amakuŋŋaaniro, bw'alirabayo abantu ab'ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusaalemi. 44ACT009.003 And as he journeyed, he came near Damascus: and suddenly there shined round about him a light from heaven: %%% Awo bwe yali ng'atambula, ng'anaatera okutuuka e Ddamasiko, amangu ago omusana oguva mu ggulu ne gumwakira okumwetooloola, 44ACT009.004 And he fell to the earth, and heard a voice saying unto him, Saul, Saul, why persecutest thou me? %%% n'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? 44ACT009.005 And he said, Who art thou, Lord? And the Lord said, I am Jesus whom thou persecutest: it is hard for thee to kick against the pricks. %%% N'agamba nti Ani ggwe, Mukama wange? Ye n'agamba nti Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe: 44ACT009.006 And he trembling and astonished said, Lord, what wilt thou have me to do? And the Lord said unto him, Arise, and go into the city, and it shall be told thee what thou must do. %%% naye golokoka oyingire mu kibuga; onoobuulirwa ebikugwanidde okukola. 44ACT009.007 And the men which journeyed with him stood speechless, hearing a voice, but seeing no man. %%% Naye abaali batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu. 44ACT009.008 And Saul arose from the earth; and when his eyes were opened, he saw no man: but they led him by the hand, and brought him into Damascus. %%% Sawulo n'agolokoka wansi, amaaso ge bwe gaazibuka, n'atalaba kintu: ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Ddamasiko. 44ACT009.009 And he was three days without sight, and neither did eat nor drink. %%% N'amala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya, wadde nga tanywa. 44ACT009.010 And there was a certain disciple at Damascus, named Ananias; and to him said the Lord in a vision, Ananias. And he said, Behold, I am here, Lord. %%% Yaliyo omuyigirizwa mu Ddamasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waffe n'amugamba mu kwolesebwa nti Ananiya. N'amugamba nti Laba, nze nzuuno, Mukama wange. 44ACT009.011 And the Lord said unto him, Arise, and go into the street which is called Straight, and enquire in the house of Judas for one called Saul, of Tarsus: for, behold, he prayeth, %%% Mukama waffe n'amugamba nti Golokoka ogende mu kkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuulirize mu nnyumba ya Yuda omuntu erinnya lye Sawulo ow'e Taluso; kubanga, laba, asaba; 44ACT009.012 And hath seen in a vision a man named Ananias coming in, and putting his hand on him, that he might receive his sight. %%% era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira, ng'amussaako emikono azibule. 44ACT009.013 Then Ananias answered, Lord, I have heard by many of this man, how much evil he hath done to thy saints at Jerusalem: %%% Naye Ananiya n'addamu nti Mukama wange, omuntu oyo nnawulira ebigambo bye mu bangi, obubi bwe yakolanga abatukuvu be abali e Yerusaalemi bwe buli obungi: 44ACT009.014 And here he hath authority from the chief priests to bind all that call on thy name. %%% ne wano alina obuyinza obuva eri bakabona abakulu okubasiba bonna abakusaba erinnya lyo. 44ACT009.015 But the Lord said unto him, Go thy way: for he is a chosen vessel unto me, to bear my name before the Gentiles, and kings, and the children of Israel: %%% Naye Mukama waffe n'amugamba nti Genda; kubanga oyo kye kibya ekironde gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g'amawanga ne bakabaka n'abaana ba Isiraeri. 44ACT009.016 For I will shew him how great things he must suffer for my name's sake. %%% Kubanga ndimulaga ebigambo bwe biri ebingi ebimugwanidde okubonyaabonyezebwa olw'erinnya lyange. 44ACT009.017 And Ananias went his way, and entered into the house; and putting his hands on him said, Brother Saul, the Lord, even Jesus, that appeared unto thee in the way as thou camest, hath sent me, that thou mightest receive thy sight, and be filled with the Holy Ghost. %%% Ananiya n'agenda n'ayingira mu nnyumba, bwe yamussaako emikono n'ayogera nti Ow'oluganda Sawulo, Mukama waffe antumye, Yesu eyakulabikira mu kkubo lye wafulumamu, ozibule, ojjuzibwe Omwoyo Omutukuvu. 44ACT009.018 And immediately there fell from his eyes as it had been scales: and he received sight forthwith, and arose, and was baptized. %%% Amangu ago ku maaso ge ne kuba ng'okuvuddeko amagamba, n'azibula, n'ayimirira n'abatizibwa: 44ACT009.019 And when he had received meat, he was strengthened. Then was Saul certain days with the disciples which were at Damascus. %%% bwe yatoola emmere n'afuna amaanyi. N'abeera n'abayigirizwa abaali mu Ddamasiko ennaku nnyingiko. 44ACT009.020 And straightway he preached Christ in the synagogues, that he is the Son of God. %%% Amangu ago n'abuulira Yesu mu makuŋŋaaniro ng'oyo ye Mwana wa Katonda. 44ACT009.021 But all that heard him were amazed, and said; Is not this he that destroyed them which called on this name in Jerusalem, and came hither for that intent, that he might bring them bound unto the chief priests? %%% Bonna abaamuwulira ne beewuunya ne bagamba nti Si ye wuuno eyanyaganga mu Yerusaalemi abaasabanga erinnya eryo? kye kyamuleeta ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu. 44ACT009.022 But Saul increased the more in strength, and confounded the Jews which dwelt at Damascus, proving that this is very Christ. %%% Naye Sawulo ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi n'akwasanga ensonyi Abayudaaya abaali batuula e Ddamasiko, ng'ategeereza ddala nti oyo ye Kristo. 44ACT009.023 And after that many days were fulfilled, the Jews took counsel to kill him: %%% Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne bateesa okumutta. 44ACT009.024 But their laying await was known of Saul. And they watched the gates day and night to kill him. %%% Naye amagezi gaabwe Sawulo n'agamanya. Ne bateeganga ne ku nzigi emisana n'ekiro okumutta. 44ACT009.025 Then the disciples took him by night, and let him down by the wall in a basket. %%% Naye abayigirizwa be ne bamutwala kiro ku kisenge, ne bamussiririza mu kisero. 44ACT009.026 And when Saul was come to Jerusalem, he assayed to join himself to the disciples: but they were all afraid of him, and believed not that he was a disciple. %%% Bwe yatuuka e Yerusaalemi n'agezaako okwegatta n'abayigirizwa: ne bamutya bonna, nga tebannaba kukkiriza nga naye muyigirizwa. 44ACT009.027 But Barnabas took him, and brought him to the apostles, and declared unto them how he had seen the Lord in the way, and that he had spoken to him, and how he had preached boldly at Damascus in the name of Jesus. %%% Naye Balunabba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abannyonnyola bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, era nti yayogera naye, ne bwe yabuulira n'obugumu mu Ddamasiko mu linnya lya Yesu. 44ACT009.028 And he was with them coming in and going out at Jerusalem. %%% N'abeeranga wamu nabo ng'ayingiranga ng'afulumanga mu Yerusaalemi, 44ACT009.029 And he spake boldly in the name of the Lord Jesus, and disputed against the Grecians: but they went about to slay him. %%% ng'abuuliranga n'obugumu mu linnya lya Mukama waffe: n'ayogera n'awakananga n'Abakerenisiti: naye ne bagezaako okumutta. 44ACT009.030 Which when the brethren knew, they brought him down to Caesarea, and sent him forth to Tarsus. %%% Ab'oluganda bwe baategeera ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso. 44ACT009.031 Then had the churches rest throughout all Judaea and Galilee and Samaria, and were edified; and walking in the fear of the Lord, and in the comfort of the Holy Ghost, were multiplied. %%% Awo ekkanisa eyali mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya n'eba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waffe ne mu ssanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera. 44ACT009.032 And it came to pass, as Peter passed throughout all quarters, he came down also to the saints which dwelt at Lydda. %%% Awo olwatuuka Peetero bwe yali ng'ayita wonna wonna, n'aserengeta eri abatukuvu abaali batuula mu Luda: 44ACT009.033 And there he found a certain man named Aeneas, which had kept his bed eight years, and was sick of the palsy. %%% n'asangayo omusajja erinnya lye Ayineya eyali yaakamaze ku kitanda emyaka munaana, olw'endwadde y'okukoozimba. 44ACT009.034 And Peter said unto him, Aeneas, Jesus Christ maketh thee whole: arise, and make thy bed. And he arose immediately. %%% Peetero n'amugamba nti Ayineya, Yesu Kristo akuwonya: yimirira, weeyalire. Amangu ago n'ayimirira. 44ACT009.035 And all that dwelt at Lydda and Saron saw him, and turned to the Lord. %%% Bonna abaali batuula mu Luda ne mu Saloni ne bamulaba ne bakyukira Mukama waffe. 44ACT009.036 Now there was at Joppa a certain disciple named Tabitha, which by interpretation is called Dorcas: this woman was full of good works and almsdeeds which she did. %%% Awo waaliwo mu Yopa omukazi omuyigirizwa, erinnya lye Tabbiisa (okutegeezebwa kwalyo ayitibwa Doluka): omukazi oyo yali ajjudde ebikolwa ebirungi n’abintu bye yagabanga. 44ACT009.037 And it came to pass in those days, that she was sick, and died: whom when they had washed, they laid her in an upper chamber. %%% Olwatuuka mu nnaku ezo n'alwala n'afa: bwe baamala okumunaaza ne bamuteeka mu kisenge ekya waggulu. 44ACT009.038 And forasmuch as Lydda was nigh to Joppa, and the disciples had heard that Peter was there, they sent unto him two men, desiring him that he would not delay to come to them. %%% Era kubanga Luda kyali kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawulira nga Peetero gyali, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti Tolwa, tuukirira gye tuli. 44ACT009.039 Then Peter arose and went with them. When he was come, they brought him into the upper chamber: and all the widows stood by him weeping, and shewing the coats and garments which Dorcas made, while she was with them. %%% Peetero n'agolokoka n'agenda nabo. Bwe yatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu: ne bannamwandu bonna ne bayimirira kumpi naye, nga bakaaba nga boolesa ebizibawo n'ebyambalo Doluka bye yakolanga ng'akyali nabo. 44ACT009.040 But Peter put them all forth, and kneeled down, and prayed; and turning him to the body said, Tabitha, arise. And she opened her eyes: and when she saw Peter, she sat up. %%% Naye Peetero n'abafulumya bonna n'afukamira n’asaba; n'akyukira omulambo n'agamba nti Tabbiisa, yimirira. N'azibula amaaso ge; awo bwe yalaba Peetero, n'agolokoka n'atuula. 44ACT009.041 And he gave her his hand, and lifted her up, and when he had called the saints and widows, presented her alive. %%% N'amuwa omukono n'amuyimusa; awo bwe yamala okuyita abatukuvu ne bannamwandu, n'amuleeta, nga mulamu. 44ACT009.042 And it was known throughout all Joppa; and many believed in the Lord. %%% Ne kitegeerwa mu Yopa kyonna; bangi ne bakkiriza Mukama waffe. 44ACT009.043 And it came to pass, that he tarried many days in Joppa with one Simon a tanner. %%% Awo olwatuuka n'alwayo ennaku nnyingi mu Yopa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba. 44ACT010.001 There was a certain man in Caesarea called Cornelius, a centurion of the band called the Italian band, %%% Waaliwo omuntu mu Kayisaliya, erinnya lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayitibwanga Ekitaliano, 44ACT010.002 A devout man, and one that feared God with all his house, which gave much alms to the people, and prayed to God alway. %%% omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n'asabanga Katonda ennaku zonna. 44ACT010.003 He saw in a vision evidently about the ninth hour of the day an angel of God coming in to him, and saying unto him, Cornelius. %%% Oyo n'alaba mu kwolesebwa mu lwatu, nga mu ssaawa ey'omwenda ey'emisana, malayika wa Katonda ng'amuyingirira, ng'amugamba nti Koluneeriyo. 44ACT010.004 And when he looked on him, he was afraid, and said, What is it, Lord? And he said unto him, Thy prayers and thine alms are come up for a memorial before God. %%% N'amwekaliriza amaaso n'atya n'agamba nti Kiki, Mukama wange? N'amugamba nti Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye olw'okujjukiza mu maaso ga Katonda. 44ACT010.005 And now send men to Joppa, and call for one Simon, whose surname is Peter: %%% Era kaakano tuma abantu e Yopa, oyiteyo omuntu Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: 44ACT010.006 He lodgeth with one Simon a tanner, whose house is by the sea side: he shall tell thee what thou oughtest to do. %%% oyo yakyazibwa omuntu Simooni, omuwazi w'amaliba, n'ennyumba ye eriraanye ku nnyanja. 44ACT010.007 And when the angel which spake unto Cornelius was departed, he called two of his household servants, and a devout soldier of them that waited on him continually; %%% Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga buliijo: 44ACT010.008 And when he had declared all these things unto them, he sent them to Joppa. %%% bwe yamala okubategeeza ebigambo byonna n'abatuma e Yopa. 44ACT010.009 On the morrow, as they went on their journey, and drew nigh unto the city, Peter went up upon the housetop to pray about the sixth hour: %%% Awo ku lunaku olw'okubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga. 44ACT010.010 And he became very hungry, and would have eaten: but while they made ready, he fell into a trance, %%% N'alumwa enjala n'ayagala okulya. Naye bwe baali nga bajjula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa; 44ACT010.011 And saw heaven opened, and a certain vessel descending unto him, as it had been a great sheet knit at the four corners, and let down to the earth: %%% n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku birenge bina okussibwa, n'essibwa wansi: 44ACT010.012 Wherein were all manner of fourfooted beasts of the earth, and wild beasts, and creeping things, and fowls of the air. %%% omwali ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n’eby'ewalula eby’ensi, n’ennyonyi ez’omu bbanga. 44ACT010.013 And there came a voice to him, Rise, Peter; kill, and eat. %%% Eddoboozi ne lijja eri ye nti Golokoka, Peetero, osale olye. 44ACT010.014 But Peter said, Not so, Lord; for I have never eaten any thing that is common or unclean. %%% Naye Peetero n'agamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo newakubadde ekibi. 44ACT010.015 And the voice spake unto him again the second time, What God hath cleansed, that call not thou common. %%% Eddoboozi nate (ne lijja) gy'ali omulundi ogw'okubiri nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo. 44ACT010.016 This was done thrice: and the vessel was received up again into heaven. %%% Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangu ago ekintu ne kitwalibwa mu ggulu. 44ACT010.017 Now while Peter doubted in himself what this vision which he had seen should mean, behold, the men which were sent from Cornelius had made enquiry for Simon's house, and stood before the gate, %%% Awo Peetero bwe yabuusabuusa munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi, 44ACT010.018 And called, and asked whether Simon, which was surnamed Peter, were lodged there. %%% ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero, yakyazibwa omwo. 44ACT010.019 While Peter thought on the vision, the Spirit said unto him, Behold, three men seek thee. %%% Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti Laba, abantu basatu bakunoonya. 44ACT010.020 Arise therefore, and get thee down, and go with them, doubting nothing: for I have sent them. %%% Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye. 44ACT010.021 Then Peter went down to the men which were sent unto him from Cornelius; and said, Behold, I am he whom ye seek: what is the cause wherefore ye are come? %%% Peetero n'akka eri abantu n'agamba nti Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese? 44ACT010.022 And they said, Cornelius the centurion, a just man, and one that feareth God, and of good report among all the nation of the Jews, was warned from God by an holy angel to send for thee into his house, and to hear words of thee. %%% Ne bagamba nti Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe. 44ACT010.023 Then called he them in, and lodged them. And on the morrow Peter went away with them, and certain brethren from Joppa accompanied him. %%% Awo n'abayingiza n'abaaniriza. Awo ku lunaku olw'okubiri Peetero n’agolokoka n'asitula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye. 44ACT010.024 And the morrow after they entered into Caesarea. And Cornelius waited for them, and had called together his kinsmen and near friends. %%% Awo ku lunaku olw'okubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo. 44ACT010.025 And as Peter was coming in, Cornelius met him, and fell down at his feet, and worshipped him. %%% Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira Koluneeriyo n'amusisinkana, n'amufukaamirira ku bigere n’asinza. 44ACT010.026 But Peter took him up, saying, Stand up; I myself also am a man. %%% Naye Peetero n'amuyimusa ng'agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu. 44ACT010.027 And as he talked with him, he went in, and found many that were come together. %%% Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye, 44ACT010.028 And he said unto them, Ye know how that it is an unlawful thing for a man that is a Jew to keep company, or come unto one of another nation; but God hath shewed me that I should not call any man common or unclean. %%% n'abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita amuntu yenna ow'omuzizo oba omubi. 44ACT010.029 Therefore came I unto you without gainsaying, as soon as I was sent for: I ask therefore for what intent ye have sent for me? %%% Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyeava mbuuza nti Kiki ekimpisizza? 44ACT010.030 And Cornelius said, Four days ago I was fasting until this hour; and at the ninth hour I prayed in my house, and, behold, a man stood before me in bright clothing, %%% Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimamasa, 44ACT010.031 And said, Cornelius, thy prayer is heard, and thine alms are had in remembrance in the sight of God. %%% n'agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda. 44ACT010.032 Send therefore to Joppa, and call hither Simon, whose surname is Peter; he is lodged in the house of one Simon a tanner by the sea side: who, when he cometh, shall speak unto thee. %%% Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n’annyanja. 44ACT010.033 Immediately therefore I sent to thee; and thou hast well done that thou art come. Now therefore are we all here present before God, to hear all things that are commanded thee of God. %%% Awo amangu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama. 44ACT010.034 Then Peter opened his mouth, and said, Of a truth I perceive that God is no respecter of persons: %%% Awo Peetero n'ayasamya akamwa ke n'agamba nti Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: 44ACT010.035 But in every nation he that feareth him, and worketh righteousness, is accepted with him. %%% naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza. 44ACT010.036 The word which God sent unto the children of Israel, preaching peace by Jesus Christ: (he is Lord of all:) %%% Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo (ye Mukama w'ebintu byonna)- 44ACT010.037 That word, I say, ye know, which was published throughout all Judaea, and began from Galilee, after the baptism which John preached; %%% mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana, 44ACT010.038 How God anointed Jesus of Nazareth with the Holy Ghost and with power: who went about doing good, and healing all that were oppressed of the devil; for God was with him. %%% Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye. 44ACT010.039 And we are witnesses of all things which he did both in the land of the Jews, and in Jerusalem; whom they slew and hanged on a tree: %%% Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti. 44ACT010.040 Him God raised up the third day, and shewed him openly; %%% Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olw'okusatu n'amulaga mu lwatu, 44ACT010.041 Not to all the people, but unto witnesses chosen before of God, even to us, who did eat and drink with him after he rose from the dead. %%% si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu. 44ACT010.042 And he commanded us to preach unto the people, and to testify that it is he which was ordained of God to be the Judge of quick and dead. %%% N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango gw'abalamu n'abafu. 44ACT010.043 To him give all the prophets witness, that through his name whosoever believeth in him shall receive remission of sins. %%% Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye. 44ACT010.044 While Peter yet spake these words, the Holy Ghost fell on all them which heard the word. %%% Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo. 44ACT010.045 And they of the circumcision which believed were astonished, as many as came with Peter, because that on the Gentiles also was poured out the gift of the Holy Ghost. %%% Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa. 44ACT010.046 For they heard them speak with tongues, and magnify God. Then answered Peter, %%% Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'addamu nti 44ACT010.047 Can any man forbid water, that these should not be baptized, which have received the Holy Ghost as well as we? %%% Omuntu ayinza okugaana amazzi bano obutabatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe? 44ACT010.048 And he commanded them to be baptized in the name of the Lord. Then prayed they him to tarry certain days. %%% N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamwegayirira okumalayo ennaku nnyingiko. 44ACT011.001 And the apostles and brethren that were in Judaea heard that the Gentiles had also received the word of God. %%% Abatume n'ab'oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira ng'amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda. 44ACT011.002 And when Peter was come up to Jerusalem, they that were of the circumcision contended with him, %%% Awo Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemi, bali abakomole ne bawakana naye 44ACT011.003 Saying, Thou wentest in to men uncircumcised, and didst eat with them. %%% nga bagamba nti Wagenda mu bantu abatali bakomole n'olya nabo. 44ACT011.004 But Peter rehearsed the matter from the beginning, and expounded it by order unto them, saying, %%% Naye Peetero n'atanula n'abannyonnyola kinnakimu ng'agamba nti 44ACT011.005 I was in the city of Joppa praying: and in a trance I saw a vision, A certain vessel descend, as it had been a great sheet, let down from heaven by four corners; and it came even to me: %%% Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku birenge ebina okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira: 44ACT011.006 Upon the which when I had fastened mine eyes, I considered, and saw fourfooted beasts of the earth, and wild beasts, and creeping things, and fowls of the air. %%% bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'eby'ekulula n'ennyonyi ez'omu bbanga. 44ACT011.007 And I heard a voice saying unto me, Arise, Peter; slay and eat. %%% Era ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti Peetero, yimirira osale olye. 44ACT011.008 But I said, Not so, Lord: for nothing common or unclean hath at any time entered into my mouth. %%% Naye neŋŋamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekibi tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono. 44ACT011.009 But the voice answered me again from heaven, What God hath cleansed, that call not thou common. %%% Naye eddoboozi ne linziramu omulundi ogw'okubiri nga liva mu ggulu nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo. 44ACT011.010 And this was done three times: and all were drawn up again into heaven. %%% Ne kiba bwe kityo emirundi esatu; byonna ne birinnyisibwa nate mu ggulu. 44ACT011.011 And, behold, immediately there were three men already come unto the house where I was, sent from Caesarea unto me. %%% Kale, laba, amangu ago abantu basatu baali nga bayimiridde mu maaso g'ennyumba mwe twali, abaatumibwa gye ndi okuva e Kayisaliya. 44ACT011.012 And the Spirit bade me go with them, nothing doubting. Moreover these six brethren accompanied me, and we entered into the man's house: %%% Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli; 44ACT011.013 And he shewed us how he had seen an angel in his house, which stood and said unto him, Send men to Joppa, and call for Simon, whose surname is Peter; %%% n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye ery'okubiri Peetero; 44ACT011.014 Who shall tell thee words, whereby thou and all thy house shall be saved. %%% alikubuulira ebigambo ebirikulokola ggwe n'ennyumba yo yonna. 44ACT011.015 And as I began to speak, the Holy Ghost fell on them, as on us at the beginning. %%% Bwe nnali kye njije ntanule okwogera, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako era nga bwe yasookera ku ffe. 44ACT011.016 Then remembered I the word of the Lord, how that he said, John indeed baptized with water; but ye shall be baptized with the Holy Ghost. %%% Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu. 44ACT011.017 Forasmuch then as God gave them the like gift as he did unto us, who believed on the Lord Jesus Christ; what was I, that I could withstand God? %%% Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda? 44ACT011.018 When they heard these things, they held their peace, and glorified God, saying, Then hath God also to the Gentiles granted repentance unto life. %%% Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Kale Katonda; awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu. 44ACT011.019 Now they which were scattered abroad upon the persecution that arose about Stephen travelled as far as Phenice, and Cyprus, and Antioch, preaching the word to none but unto the Jews only. %%% N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka. 44ACT011.020 And some of them were men of Cyprus and Cyrene, which, when they were come to Antioch, spake unto the Grecians, preaching the LORD Jesus. %%% Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu. 44ACT011.021 And the hand of the Lord was with them: and a great number believed, and turned unto the Lord. %%% N'omukono gwa Mukama waffe gwali nabo: ekibiina kinene eky'abakkiriza ne bakyukira Mukama waffe. 44ACT011.022 Then tidings of these things came unto the ears of the church which was in Jerusalem: and they sent forth Barnabas, that he should go as far as Antioch. %%% Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekkanisa eyali mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya: 44ACT011.023 Who, when he came, and had seen the grace of God, was glad, and exhorted them all, that with purpose of heart they would cleave unto the Lord. %%% naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe: 44ACT011.024 For he was a good man, and full of the Holy Ghost and of faith: and much people was added unto the Lord. %%% kubanga yali muntu mulungi, n'ajjula Omwoyo Omutukuvu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waffe. 44ACT011.025 Then departed Barnabas to Tarsus, for to seek Saul: %%% N'avaayo okugenda e Taluso okunoonya Sawulo: 44ACT011.026 And when he had found him, he brought him unto Antioch. And it came to pass, that a whole year they assembled themselves with the church, and taught much people. And the disciples were called Christians first in Antioch. %%% bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya. 44ACT011.027 And in these days came prophets from Jerusalem unto Antioch. %%% Mu nnaku ezo bannabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyoklya. 44ACT011.028 And there stood up one of them named Agabus, and signified by the Spirit that there should be great dearth throughout all the world: which came to pass in the days of Claudius Caesar. %%% N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo. 44ACT011.029 Then the disciples, every man according to his ability, determined to send relief unto the brethren which dwelt in Judaea: %%% Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yalina ebintu, ne bateesa okuweereza ab'oluganda abaali batuula e Buyudaaya: 44ACT011.030 Which also they did, and sent it to the elders by the hands of Barnabas and Saul. %%% n'okukola ne bakola bwe batyo ne baweereza abakadde mu mukono gwa Balunabba ne Sawulo. 44ACT012.001 Now about that time Herod the king stretched forth his hands to vex certain of the church. %%% Mu biro ebyo kabaka Kerode n'agolola emikono okukola obubi abamu ab'omu kkanisa. 44ACT012.002 And he killed James the brother of John with the sword. %%% N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yokaana. 44ACT012.003 And because he saw it pleased the Jews, he proceeded further to take Peter also. (Then were the days of unleavened bread.) %%% Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero. Ze nnaku ez'emigaati egitazimbulukuswa. 44ACT012.004 And when he had apprehended him, he put him in prison, and delivered him to four quaternions of soldiers to keep him; intending after Easter to bring him forth to the people. %%% Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde. 44ACT012.005 Peter therefore was kept in prison: but prayer was made without ceasing of the church unto God for him. %%% Awo Peetero n'akuumirwa mu kkomera: naye ab'ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda. 44ACT012.006 And when Herod would have brought him forth, the same night Peter was sleeping between two soldiers, bound with two chains: and the keepers before the door kept the prison. %%% Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera. 44ACT012.007 And, behold, the angel of the Lord came upon him, and a light shined in the prison: and he smote Peter on the side, and raised him up, saying, Arise up quickly. And his chains fell off from his hands. %%% Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti Yimuka mangu. Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa. 44ACT012.008 And the angel said unto him, Gird thyself, and bind on thy sandals. And so he did. And he saith unto him, Cast thy garment about thee, and follow me. %%% Malayika n'amugamba nti Weesibe, oyambale engatto zo. N'akola bw'atyo. N'amugamba nti Yambala ekyambalo kyo, ongoberere. 44ACT012.009 And he went out, and followed him; and wist not that it was true which was done by the angel; but thought he saw a vision. %%% N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa. 44ACT012.010 When they were past the first and the second ward, they came unto the iron gate that leadeth unto the city; which opened to them of his own accord: and they went out, and passed on through one street; and forthwith the angel departed from him. %%% Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n'ab'okubiri ne batuuka ku luggi olw'ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangu ago malayika n'amuleka. 44ACT012.011 And when Peter was come to himself, he said, Now I know of a surety, that the LORD hath sent his angel, and hath delivered me out of the hand of Herod, and from all the expectation of the people of the Jews. %%% Peetero bwe yeddamu n'agamba nti Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anziya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya. 44ACT012.012 And when he had considered the thing, he came to the house of Mary the mother of John, whose surname was Mark; where many were gathered together praying. %%% Bwe yalowooza n'ajja mu nnyumba ya Malyamu eyali nnyina Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko, mwe baali bakuŋŋaanidde abangi nga basaba. 44ACT012.013 And as Peter knocked at the door of the gate, a damsel came to hearken, named Rhoda. %%% Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'omu mulyango omuzaana n'ajja okuyitaba, erinnya lye Looda. 44ACT012.014 And when she knew Peter's voice, she opened not the gate for gladness, but ran in, and told how Peter stood before the gate. %%% Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'ayingira mbiro n'agamba nti Peetero ayimiridde ebweru ku luggi. 44ACT012.015 And they said unto her, Thou art mad. But she constantly affirmed that it was even so. Then said they, It is his angel. %%% Ne bamugamha nti Olaluse. Naye n'akaliriza nti Weewaawo. Ne bagamba nti Ye malayika we. 44ACT012.016 But Peter continued knocking: and when they had opened the door, and saw him, they were astonished. %%% Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baggulawo ne bamulaba ne basamaalirira. 44ACT012.017 But he, beckoning unto them with the hand to hold their peace, declared unto them how the Lord had brought him out of the prison. And he said, Go shew these things unto James, and to the brethren. And he departed, and went into another place. %%% Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda. N'avaayo n'agenda mu kifo awalala. 44ACT012.018 Now as soon as it was day, there was no small stir among the soldiers, what was become of Peter. %%% Awo bwe bwakya enkya, basserikale ne beegugumula nnyo nti Peetero nno abadde ki? 44ACT012.019 And when Herod had sought for him, and found him not, he examined the keepers, and commanded that they should be put to death. And he went down from Judaea to Caesarea, and there abode. %%% Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo. 44ACT012.020 And Herod was highly displeased with them of Tyre and Sidon: but they came with one accord to him, and, having made Blastus the king's chamberlain their friend, desired peace; because their country was nourished by the king's country. %%% N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka. 44ACT012.021 And upon a set day Herod, arrayed in royal apparel, sat upon his throne, and made an oration unto them. %%% Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo. 44ACT012.022 And the people gave a shout, saying, It is the voice of a god, and not of a man. %%% Abantu bonna ne boogerera waggulu nti Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu. 44ACT012.023 And immediately the angel of the Lord smote him, because he gave not God the glory: and he was eaten of worms, and gave up the ghost. %%% Amangu ago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa. 44ACT012.024 But the word of God grew and multiplied. %%% Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga. 44ACT012.025 And Barnabas and Saul returned from Jerusalem, when they had fulfilled their ministry, and took with them John, whose surname was Mark. %%% Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko. 44ACT013.001 Now there were in the church that was at Antioch certain prophets and teachers; as Barnabas, and Simeon that was called Niger, and Lucius of Cyrene, and Manaen, which had been brought up with Herod the tetrarch, and Saul. %%% Mu Antiyokiya mu kkanisa eyaliyo waaliwo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo. 44ACT013.002 As they ministered to the Lord, and fasted, the Holy Ghost said, Separate me Barnabas and Saul for the work whereunto I have called them. %%% Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde. 44ACT013.003 And when they had fasted and prayed, and laid their hands on them, they sent them away. %%% Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma. 44ACT013.004 So they, being sent forth by the Holy Ghost, departed unto Seleucia; and from thence they sailed to Cyprus. %%% Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Kupulo. 44ACT013.005 And when they were at Salamis, they preached the word of God in the synagogues of the Jews: and they had also John to their minister. %%% Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza. 44ACT013.006 And when they had gone through the isle unto Paphos, they found a certain sorcerer, a false prophet, a Jew, whose name was Barjesus: %%% Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa; 44ACT013.007 Which was with the deputy of the country, Sergius Paulus, a prudent man; who called for Barnabas and Saul, and desired to hear the word of God. %%% eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 44ACT013.008 But Elymas the sorcerer (for so is his name by interpretation) withstood them, seeking to turn away the deputy from the faith. %%% Naye Eruma omulogo (kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa) n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza. 44ACT013.009 Then Saul, (who also is called Paul,) filled with the Holy Ghost, set his eyes on him, %%% Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekaliriza amaaso, 44ACT013.010 And said, O full of all subtilty and all mischief, thou child of the devil, thou enemy of all righteousness, wilt thou not cease to pervert the right ways of the Lord? %%% n'agamba nti Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu? 44ACT013.011 And now, behold, the hand of the Lord is upon thee, and thou shalt be blind, not seeing the sun for a season. And immediately there fell on him a mist and a darkness; and he went about seeking some to lead him by the hand. %%% Kaakano, laba, omukono gwa Mukama waffe guli ku ggwe, onooba muzibe wa maaso nga tolaba njuba ebiro bingiko. Amangu ago ekifu ne kimugwako, n'enzikiza; n'awammanta n'anoonya abantu ab'okumukwata ku mukono. 44ACT013.012 Then the deputy, when he saw what was done, believed, being astonished at the doctrine of the Lord. %%% Awo owessaza bwe yalaba bwe kibadde n'akkiriza nga yeewuunya nnyo okuyigiriza kwa Mukama waffe. 44ACT013.013 Now when Paul and his company loosed from Paphos, they came to Perga in Pamphylia: and John departing from them returned to Jerusalem. %%% Awo Pawulo ne banne ne bawanika amatanga okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky'e Panfuliya: Yokaana n'abalekayo n'addayo e Yerusaalemi. 44ACT013.014 But when they departed from Perga, they came to Antioch in Pisidia, and went into the synagogue on the sabbath day, and sat down. %%% Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuggaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula. 44ACT013.015 And after the reading of the law and the prophets the rulers of the synagogue sent unto them, saying, Ye men and brethren, if ye have any word of exhortation for the people, say on. %%% Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere. 44ACT013.016 Then Paul stood up, and beckoning with his hand said, Men of Israel, and ye that fear God, give audience. %%% Pawulo n'ayimirira n'abawenya n'omukono n'agamba nti Abasajja Abaisiraeri, nammwe abatya Katonda, muwulire. 44ACT013.017 The God of this people of Israel chose our fathers, and exalted the people when they dwelt as strangers in the land of Egypt, and with an high arm brought he them out of it. %%% Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa. 44ACT013.018 And about the time of forty years suffered he their manners in the wilderness. %%% N'abagumiikiriza mu ddungu emyaka ng'amakumi ana. 44ACT013.019 And when he had destroyed seven nations in the land of Chanaan, he divided their land to them by lot. %%% Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka ebikumi bina mu ataano. 44ACT013.020 And after that he gave unto them judges about the space of four hundred and fifty years, until Samuel the prophet. %%% Oluvannyuma lw'egyo n'abawa abalamuzi okutuuka ku nnabbi Samwiri. 44ACT013.021 And afterward they desired a king: and God gave unto them Saul the son of Cis, a man of the tribe of Benjamin, by the space of forty years. %%% Oluvannyuma ne baagala kabaka; Katonda n'abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n'amala emyaka amakumi ana. 44ACT013.022 And when he had removed him, he raised up unto them David to be their king; to whom also he gave testimony, and said, I have found David the son of Jesse, a man after mine own heart, which shall fulfil all my will. %%% Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna. 44ACT013.023 Of this man's seed hath God according to his promise raised unto Israel a Saviour, Jesus: %%% Oyo mu zzadde lye nga Katonda bwe yasuubiza, aleetedde Isiraeri Omulokozi Yesu, 44ACT013.024 When John had first preached before his coming the baptism of repentance to all the people of Israel. %%% Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri. 44ACT013.025 And as John fulfilled his course, he said, Whom think ye that I am? I am not he. But, behold, there cometh one after me, whose shoes of his feet I am not worthy to loose. %%% Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja ennyuma wange, gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye. 44ACT013.026 Men and brethren, children of the stock of Abraham, and whosoever among you feareth God, to you is the word of this salvation sent. %%% Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezebwa waffe. 44ACT013.027 For they that dwell at Jerusalem, and their rulers, because they knew him not, nor yet the voices of the prophets which are read every sabbath day, they have fulfilled them in condemning him. %%% Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango. 44ACT013.028 And though they found no cause of death in him, yet desired they Pilate that he should be slain. %%% Bwe bataalaba nsonga ya kumutta, ne basaba Piraato okumutta. 44ACT013.029 And when they had fulfilled all that was written of him, they took him down from the tree, and laid him in a sepulchre. %%% Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako ne bamuwanula ku muti ne bamuteeka mu ntaana. 44ACT013.030 But God raised him from the dead: %%% Naye Katonda n'amuzuukiza mu bafu: 44ACT013.031 And he was seen many days of them which came up with him from Galilee to Jerusalem, who are his witnesses unto the people. %%% n'abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu. 44ACT013.032 And we declare unto you glad tidings, how that the promise which was made unto the fathers, %%% Ffe tubabuulira ebigambo ebirungi, eby'okusuubiza okwasuubizibwa bajjajja nti 44ACT013.033 God hath fulfilled the same unto us their children, in that he hath raised up Jesus again; as it is also written in the second psalm, Thou art my Son, this day have I begotten thee. %%% Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli ey'okubiri nti Ggwe mwana wange, nkuzadde leero. 44ACT013.034 And as concerning that he raised him up from the dead, now no more to return to corruption, he said on this wise, I will give you the sure mercies of David. %%% Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw'ati nti Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi. 44ACT013.035 Wherefore he saith also in another psalm, Thou shalt not suffer thine Holy One to see corruption. %%% Kubanga yayogera ne mu Zabbuli endala nti Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda. 44ACT013.036 For David, after he had served his own generation by the will of God, fell on sleep, and was laid unto his fathers, and saw corruption: %%% Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, ne yeebaka n'ateekebwa eri bajjajjaabe, n'avunda: 44ACT013.037 But he, whom God raised again, saw no corruption. %%% naye oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda. 44ACT013.038 Be it known unto you therefore, men and brethren, that through this man is preached unto you the forgiveness of sins: %%% Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggibwako ebibi kubuuliddwa; 44ACT013.039 And by him all that believe are justified from all things, from which ye could not be justified by the law of Moses. %%% byonna bye mutandiyinzizza kuggibwako mu mateeka ga Musa, ku bw'oyo buli akkiriza abiggibwako. 44ACT013.040 Beware therefore, lest that come upon you, which is spoken of in the prophets; %%% Kale mwekuume kireme okujja ku mmwe ekyayogerwa bannabbi nti 44ACT013.041 Behold, ye despisers, and wonder, and perish: for I work a work in your days, a work which ye shall in no wise believe, though a man declare it unto you. %%% Laba, mmwe abanyooma, mwewuunye, mubule; Kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe Omulimu gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng'agubabuulidde nnyo. 44ACT013.042 And when the Jews were gone out of the synagogue, the Gentiles besought that these words might be preached to them the next sabbath. %%% Bwe baafuluma ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku ssabbiiti ey'okubiri. 44ACT013.043 Now when the congregation was broken up, many of the Jews and religious proselytes followed Paul and Barnabas: who, speaking to them, persuaded them to continue in the grace of God. %%% Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda. 44ACT013.044 And the next sabbath day came almost the whole city together to hear the word of God. %%% Awo ku ssabbiiti ey'okubiri ne bakuŋŋaana nga kibuga kyonna okuwulira ekigambo kya Katonda. 44ACT013.045 But when the Jews saw the multitudes, they were filled with envy, and spake against those things which were spoken by Paul, contradicting and blaspheming. %%% Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma. 44ACT013.046 Then Paul and Barnabas waxed bold, and said, It was necessary that the word of God should first have been spoken to you: but seeing ye put it from you, and judge yourselves unworthy of everlasting life, lo, we turn to the Gentiles. %%% Pawulo ne Balunabba ne boogera n'obuvumu nti Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temwiraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab'amawanga. 44ACT013.047 For so hath the Lord commanded us, saying, I have set thee to be a light of the Gentiles, that thou shouldest be for salvation unto the ends of the earth. %%% Kubanga Mukama yatulagira bw’ati nti Nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga, Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi. 44ACT013.048 And when the Gentiles heard this, they were glad, and glorified the word of the Lord: and as many as were ordained to eternal life believed. %%% Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo. 44ACT013.049 And the word of the Lord was published throughout all the region. %%% Ekigambo kya Mukama waffe ne kibuna mu nsi eri yonna. 44ACT013.050 But the Jews stirred up the devout and honourable women, and the chief men of the city, and raised persecution against Paul and Barnabas, and expelled them out of their coasts. %%% Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe. 44ACT013.051 But they shook off the dust of their feet against them, and came unto Iconium. %%% Naye ne babakunkumulira enfuufu ey'omu bigere ne bajja okutuuka Ikoniyo. 44ACT013.052 And the disciples were filled with joy, and with the Holy Ghost. %%% Abayigirizwa ne bajjula essanyu n'Omwoyo Omutukuvu. 44ACT014.001 And it came to pass in Iconium, that they went both together into the synagogue of the Jews, and so spake, that a great multitude both of the Jews and also of the Greeks believed. %%% Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani. 44ACT014.002 But the unbelieving Jews stirred up the Gentiles, and made their minds evil affected against the brethren. %%% Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda. 44ACT014.003 Long time therefore abode they speaking boldly in the Lord, which gave testimony unto the word of his grace, and granted signs and wonders to be done by their hands. %%% Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe. 44ACT014.004 But the multitude of the city was divided: and part held with the Jews, and part with the apostles. %%% Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume. 44ACT014.005 And when there was an assault made both of the Gentiles, and also of the Jews with their rulers, to use them despitefully, and to stone them, %%% Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja, 44ACT014.006 They were ware of it, and fled unto Lystra and Derbe, cities of Lycaonia, and unto the region that lieth round about: %%% bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo: 44ACT014.007 And there they preached the gospel. %%% ne babeera eyo nga babuulira enjiri. 44ACT014.008 And there sat a certain man at Lystra, impotent in his feet, being a cripple from his mother's womb, who never had walked: %%% Mu Lusitula yaliyo omuntu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono. 44ACT014.009 The same heard Paul speak: who stedfastly beholding him, and perceiving that he had faith to be healed, %%% Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka, 44ACT014.010 Said with a loud voice, Stand upright on thy feet. And he leaped and walked. %%% n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula. 44ACT014.011 And when the people saw what Paul had done, they lifted up their voices, saying in the speech of Lycaonia, The gods are come down to us in the likeness of men. %%% Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu. 44ACT014.012 And they called Barnabas, Jupiter; and Paul, Mercurius, because he was the chief speaker. %%% Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera. 44ACT014.013 Then the priest of Jupiter, which was before their city, brought oxen and garlands unto the gates, and would have done sacrifice with the people. %%% Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina. 44ACT014.014 Which when the apostles, Barnabas and Paul, heard of, they rent their clothes, and ran in among the people, crying out, %%% Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu 44ACT014.015 And saying, Sirs, why do ye these things? We also are men of like passions with you, and preach unto you that ye should turn from these vanities unto the living God, which made heaven, and earth, and the sea, and all things that are therein: %%% nga bagamba nti Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu: 44ACT014.016 Who in times past suffered all nations to walk in their own ways. %%% mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago: 44ACT014.017 Nevertheless he left not himself without witness, in that he did good, and gave us rain from heaven, and fruitful seasons, filling our hearts with food and gladness. %%% naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu. 44ACT014.018 And with these sayings scarce restrained they the people, that they had not done sacrifice unto them. %%% Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka. 44ACT014.019 And there came thither certain Jews from Antioch and Iconium, who persuaded the people, and, having stoned Paul, drew him out of the city, supposing he had been dead. %%% Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde. 44ACT014.020 Howbeit, as the disciples stood round about him, he rose up, and came into the city: and the next day he departed with Barnabas to Derbe. %%% Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olw'okubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube. 44ACT014.021 And when they had preached the gospel to that city, and had taught many, they returned again to Lystra, and to Iconium, and Antioch, %%% Bwe baamala okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya, 44ACT014.022 Confirming the souls of the disciples, and exhorting them to continue in the faith, and that we must through much tribulation enter into the kingdom of God. %%% nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 44ACT014.023 And when they had ordained them elders in every church, and had prayed with fasting, they commended them to the Lord, on whom they believed. %%% Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza. 44ACT014.024 And after they had passed throughout Pisidia, they came to Pamphylia. %%% Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya. 44ACT014.025 And when they had preached the word in Perga, they went down into Attalia: %%% Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya; 44ACT014.026 And thence sailed to Antioch, from whence they had been recommended to the grace of God for the work which they fulfilled. %%% ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza. 44ACT014.027 And when they were come, and had gathered the church together, they rehearsed all that God had done with them, and how he had opened the door of faith unto the Gentiles. %%% Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza. 44ACT014.028 And there they abode long time with the disciples. %%% Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa. 44ACT015.001 And certain men which came down from Judaea taught the brethren, and said, Except ye be circumcised after the manner of Moses, ye cannot be saved. %%% Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka. 44ACT015.002 When therefore Paul and Barnabas had no small dissension and disputation with them, they determined that Paul and Barnabas, and certain other of them, should go up to Jerusalem unto the apostles and elders about this question. %%% Bwe waali empaka ennyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n'abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n'abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n'abakadde olw'empaka ezo. 44ACT015.003 And being brought on their way by the church, they passed through Phenice and Samaria, declaring the conversion of the Gentiles: and they caused great joy unto all the brethren. %%% Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna. 44ACT015.004 And when they were come to Jerusalem, they were received of the church, and of the apostles and elders, and they declared all things that God had done with them. %%% Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekkanisa n'abatume n'abakadde ne babasembeza, ne babuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo. 44ACT015.005 But there rose up certain of the sect of the Pharisees which believed, saying, That it was needful to circumcise them, and to command them to keep the law of Moses. %%% Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa. 44ACT015.006 And the apostles and elders came together for to consider of this matter. %%% Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo. 44ACT015.007 And when there had been much disputing, Peter rose up, and said unto them, Men and brethren, ye know how that a good while ago God made choice among us, that the Gentiles by my mouth should hear the word of the gospel, and believe. %%% Bwe waali okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'enjiri ne bakkiriza. 44ACT015.008 And God, which knoweth the hearts, bare them witness, giving them the Holy Ghost, even as he did unto us; %%% Ne Katonda amanyi emitima n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ffe; 44ACT015.009 And put no difference between us and them, purifying their hearts by faith. %%% n'atayawula ffe nabo, bwe yalongoosa emitima gyabwe olw'okukkiriza. 44ACT015.010 Now therefore why tempt ye God, to put a yoke upon the neck of the disciples, which neither our fathers nor we were able to bear? %%% Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw'abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe? 44ACT015.011 But we believe that through the grace of the LORD Jesus Christ we shall be saved, even as they. %%% Naye tukkiriza okulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era nabo bwe batyo. 44ACT015.012 Then all the multitude kept silence, and gave audience to Barnabas and Paul, declaring what miracles and wonders God had wrought among the Gentiles by them. %%% Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n'eby'amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga. 44ACT015.013 And after they had held their peace, James answered, saying, Men and brethren, hearken unto me: %%% Abo bwe baamala okusirika Yakobo n'addamu ng'agamba nti Abasajja ab'oluganda, mumpulire. 44ACT015.014 Simeon hath declared how God at the first did visit the Gentiles, to take out of them a people for his name. %%% Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu. 44ACT015.015 And to this agree the words of the prophets; as it is written, %%% Ebigambo bya bannabbi bitabagana n'ebyo nga bwe kyawandiikibwa nti 44ACT015.016 After this I will return, and will build again the tabernacle of David, which is fallen down; and I will build again the ruins thereof, and I will set it up: %%% Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka, Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa; Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate, Era ndigigolokosa: 44ACT015.017 That the residue of men might seek after the Lord, and all the Gentiles, upon whom my name is called, saith the Lord, who doeth all these things. %%% Abantu abasigalawo banoonye Mukama, N'amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange ku bo, 44ACT015.018 Known unto God are all his works from the beginning of the world. %%% Bw'ayogera Mukama, ategeeza ebyo byonna okuva ku lubereberye lw'ensi. 44ACT015.019 Wherefore my sentence is, that we trouble not them, which from among the Gentiles are turned to God: %%% Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda; 44ACT015.020 But that we write unto them, that they abstain from pollutions of idols, and from fornication, and from things strangled, and from blood. %%% naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obwenzi, n'ebitugiddwa, n'omusaayi. 44ACT015.021 For Moses of old time hath in every city them that preach him, being read in the synagogues every sabbath day. %%% Kubanga okuva edda Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng'asomebwa mu makuŋŋaaniro buli ssabbiiti. 44ACT015.022 Then pleased it the apostles and elders, with the whole church, to send chosen men of their own company to Antioch with Paul and Barnabas; namely, Judas surnamed Barsabas, and Silas, chief men among the brethren: %%% Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda: 44ACT015.023 And they wrote letters by them after this manner; The apostles and elders and brethren send greeting unto the brethren which are of the Gentiles in Antioch and Syria and Cilicia: %%% ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga: 44ACT015.024 Forasmuch as we have heard, that certain which went out from us have troubled you with words, subverting your souls, saying, Ye must be circumcised, and keep the law: to whom we gave no such commandment: %%% kubanga tuwulidde nti abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga; 44ACT015.025 It seemed good unto us, being assembled with one accord, to send chosen men unto you with our beloved Barnabas and Paul, %%% tusiimye, bwe tutabaganye n'omwoyo gumu, okulonda abantu okubatuma gye muli wamu n'abaagalwa baffe Balunabba ne Pawulo, 44ACT015.026 Men that have hazarded their lives for the name of our Lord Jesus Christ. %%% abantu abaasingawo obulamu bwabwe olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. 44ACT015.027 We have sent therefore Judas and Silas, who shall also tell you the same things by mouth. %%% Kyetuvudde tutuma Yuda ne Siira era abalibabuulira obumu bennyini n'akamwa. 44ACT015.028 For it seemed good to the Holy Ghost, and to us, to lay upon you no greater burden than these necessary things; %%% Kubanga Omwoyo Omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana, 44ACT015.029 That ye abstain from meats offered to idols, and from blood, and from things strangled, and from fornication: from which if ye keep yourselves, ye shall do well. Fare ye well. %%% okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiddwa, n'obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba. 44ACT015.030 So when they were dismissed, they came to Antioch: and when they had gathered the multitude together, they delivered the epistle: %%% Awo bo bwe baasindikibwa ne bajja e Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ne babakwasa ebbaluwa. 44ACT015.031 Which when they had read, they rejoiced for the consolation. %%% Bwe baasoma ne basanyuka olw'okubuulirirwa okwo. 44ACT015.032 And Judas and Silas, being prophets also themselves, exhorted the brethren with many words, and confirmed them. %%% Yuda ne Siira, kubanga nabo baali bannabbi, ne babuulirira ab'oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya. 44ACT015.033 And after they had tarried there a space, they were let go in peace from the brethren unto the apostles. %%% Bwe baamalayo ebiro, ne basiibulwa ab'oluganda n'emirembe okuddayo eri abaabatuma. 44ACT015.034 Notwithstanding it pleased Silas to abide there still. %%% Naye Siira yasiima okusigalayo. 44ACT015.035 Paul also and Barnabas continued in Antioch, teaching and preaching the word of the Lord, with many others also. %%% Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n'abalala bangi era. 44ACT015.036 And some days after Paul said unto Barnabas, Let us go again and visit our brethren in every city where we have preached the word of the LORD, and see how they do. %%% Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n'agamba Balunabba nti Kale tuddeyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali. 44ACT015.037 And Barnabas determined to take with them John, whose surname was Mark. %%% Balunabba era n’ayagala okutwala Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko: 44ACT015.038 But Paul thought not good to take him with them, who departed from them from Pamphylia, and went not with them to the work. %%% naye Pawulo teyasiima kumutwala oyo eyabaleka mu Panfuliya n'atagenda nabo ku mulimu. 44ACT015.039 And the contention was so sharp between them, that they departed asunder one from the other: and so Barnabas took Mark, and sailed unto Cyprus; %%% Ne wabaawo empaka nnyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Makko n'awanika amatanga okugenda e Kupulo; 44ACT015.040 And Paul chose Silas, and departed, being recommended by the brethren unto the grace of God. %%% naye Pawulo n'alonda Siira, n'avaayo, ab'oluganda bwe baamusigira ekisa kya Mukama waffe. 44ACT015.041 And he went through Syria and Cilicia, confirming the churches. %%% N'ayita mu Busuuli ne Kirukiya ng'agumya ekkanisa. 44ACT016.001 Then came he to Derbe and Lystra: and, behold, a certain disciple was there, named Timotheus, the son of a certain woman, which was a Jewess, and believed; but his father was a Greek: %%% Era n'atuuka e Derube ne Lusitula: laba, yaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'omukazi Omuyudaaya eyakkiriza: naye kitaawe Muyonaani; 44ACT016.002 Which was well reported of by the brethren that were at Lystra and Iconium. %%% eyasiimibwa ab'oluganda abaali mu Lusitula ne Ikonio. 44ACT016.003 Him would Paul have to go forth with him; and took and circumcised him because of the Jews which were in those quarters: for they knew all that his father was a Greek. %%% Oyo Pawulo n'ayagala okugenda naye; n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baamumanya nga kitaawe yali Muyonaani. 44ACT016.004 And as they went through the cities, they delivered them the decrees for to keep, that were ordained of the apostles and elders which were at Jerusalem. %%% Bwe baali nga bayita mu bibuga ne babawa okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi. 44ACT016.005 And so were the churches established in the faith, and increased in number daily. %%% Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku. 44ACT016.006 Now when they had gone throughout Phrygia and the region of Galatia, and were forbidden of the Holy Ghost to preach the word in Asia, %%% Ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya; 44ACT016.007 After they were come to Mysia, they assayed to go into Bithynia: but the Spirit suffered them not. %%% bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo gwa Yesu n'atabaganya; 44ACT016.008 And they passing by Mysia came down to Troas. %%% ne beekooloobya Musiya, ne batuuka e Tulowa. 44ACT016.009 And a vision appeared to Paul in the night; There stood a man of Macedonia, and prayed him, saying, Come over into Macedonia, and help us. %%% Pawulo n'alaba okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe. 44ACT016.010 And after he had seen the vision, immediately we endeavoured to go into Macedonia, assuredly gathering that the Lord had called us for to preach the gospel unto them. %%% Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira enjiri. 44ACT016.011 Therefore loosing from Troas, we came with a straight course to Samothracia, and the next day to Neapolis; %%% Kyetwava tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Neyapoli; 44ACT016.012 And from thence to Philippi, which is the chief city of that part of Macedonia, and a colony: and we were in that city abiding certain days. %%% ne tuvaayo okutuuka e Firipi, kye kibuga eky'e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku. 44ACT016.013 And on the sabbath we went out of the city by a river side, where prayer was wont to be made; and we sat down, and spake unto the women which resorted thither. %%% Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana. 44ACT016.014 And a certain woman named Lydia, a seller of purple, of the city of Thyatira, which worshipped God, heard us: whose heart the Lord opened, that she attended unto the things which were spoken of Paul. %%% Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n’atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe okuwuliriza Pawulo bye yayogera. 44ACT016.015 And when she was baptized, and her household, she besought us, saying, If ye have judged me to be faithful to the Lord, come into my house, and abide there. And she constrained us. %%% Bwe yabatizibwa ye n'ennyumba ye, n'atwegayirira ng'agamba nti Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo. N'atuwaliriza. 44ACT016.016 And it came to pass, as we went to prayer, a certain damsel possessed with a spirit of divination met us, which brought her masters much gain by soothsaying: %%% Awo olwatuuka bwe twali tugenda wali awaasabirwanga, omuwala eyaliko dayimooni alagula n'atusanga, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula. 44ACT016.017 The same followed Paul and us, and cried, saying, These men are the servants of the most high God, which shew unto us the way of salvation. %%% Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi. 44ACT016.018 And this did she many days. But Paul, being grieved, turned and said to the spirit, I command thee in the name of Jesus Christ to come out of her. And he came out the same hour. %%% N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo omuveeko. N'amuvaako mu kiseera ekyo. 44ACT016.019 And when her masters saw that the hope of their gains was gone, they caught Paul and Silas, and drew them into the marketplace unto the rulers, %%% Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu, 44ACT016.020 And brought them to the magistrates, saying, These men, being Jews, do exceedingly trouble our city, %%% ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti Abantu bano basasamaza nnyo ekibuga kyaffe, kubanga Bayudaaya 44ACT016.021 And teach customs, which are not lawful for us to receive, neither to observe, being Romans. %%% era bayigiriza empisa ez'omuzizo ffe okuzikwatanga newakubadde okuzikolanga kubanga tuli Baruumi. 44ACT016.022 And the multitude rose up together against them: and the magistrates rent off their clothes, and commanded to beat them. %%% Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo. 44ACT016.023 And when they had laid many stripes upon them, they cast them into prison, charging the jailor to keep them safely: %%% Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindikira mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo: 44ACT016.024 Who, having received such a charge, thrust them into the inner prison, and made their feet fast in the stocks. %%% oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abasindiikiriza mu kkomera ery'omunda, n'akomerera ebigere byabwe mu nvuba. 44ACT016.025 And at midnight Paul and Silas prayed, and sang praises unto God: and the prisoners heard them. %%% Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda, abasibe ne babawulira; 44ACT016.026 And suddenly there was a great earthquake, so that the foundations of the prison were shaken: and immediately all the doors were opened, and every one's bands were loosed. %%% amangu ago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana: amangu ago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka. 44ACT016.027 And the keeper of the prison awaking out of his sleep, and seeing the prison doors open, he drew out his sword, and would have killed himself, supposing that the prisoners had been fled. %%% Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye. 44ACT016.028 But Paul cried with a loud voice, saying, Do thyself no harm: for we are all here. %%% Naye Pawulo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba nti Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano. 44ACT016.029 Then he called for a light, and sprang in, and came trembling, and fell down before Paul and Silas, %%% N'asaba ettabaaza n'addukana n'ayingira, n'avuunamira Pawulo ne Siira, ng'akankana, 44ACT016.030 And brought them out, and said, Sirs, what must I do to be saved? %%% N'abafulumya ebweru n'agamba nti Bassebo, kiŋŋwanidde kukola ntya okulokolebwa? 44ACT016.031 And they said, Believe on the Lord Jesus Christ, and thou shalt be saved, and thy house. %%% Ne bagamba nti Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo. 44ACT016.032 And they spake unto him the word of the Lord, and to all that were in his house. %%% Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye. 44ACT016.033 And he took them the same hour of the night, and washed their stripes; and was baptized, he and all his, straightway. %%% N'abatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza emiggo; n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna amangu ago. 44ACT016.034 And when he had brought them into his house, he set meat before them, and rejoiced, believing in God with all his house. %%% N'abalinnyisa mu nnyumba ye, n'abaleetera emmeeza, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda. 44ACT016.035 And when it was day, the magistrates sent the serjeants, saying, Let those men go. %%% Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti Musumulule abantu abo. 44ACT016.036 And the keeper of the prison told this saying to Paul, The magistrates have sent to let you go: now therefore depart, and go in peace. %%% Omukuumi w'ekkomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumye okubasumulula: kale kaakano mufulume, mugende n'emirembe. 44ACT016.037 But Paul said unto them, They have beaten us openly uncondemned, being Romans, and have cast us into prison; and now do they thrust us out privily? nay verily; but let them come themselves and fetch us out. %%% Naye Pawulo n'abagamba nti Batukubidde mu maaso ga bantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli Bantu Baruumi ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye. 44ACT016.038 And the serjeants told these words unto the magistrates: and they feared, when they heard that they were Romans. %%% Basserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi: 44ACT016.039 And they came and besought them, and brought them out, and desired them to depart out of the city. %%% ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga. 44ACT016.040 And they went out of the prison, and entered into the house of Lydia: and when they had seen the brethren, they comforted them, and departed. %%% Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babasanyusa ne bavaayo. 44ACT017.001 Now when they had passed through Amphipolis and Apollonia, they came to Thessalonica, where was a synagogue of the Jews: %%% Ne Bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya: 44ACT017.002 And Paul, as his manner was, went in unto them, and three sabbath days reasoned with them out of the scriptures, %%% awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, mu ssabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa, 44ACT017.003 Opening and alleging, that Christ must needs have suffered, and risen again from the dead; and that this Jesus, whom I preach unto you, is Christ. %%% ng'abikkula ng'ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo. 44ACT017.004 And some of them believed, and consorted with Paul and Silas; and of the devout Greeks a great multitude, and of the chief women not a few. %%% Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ne Pawulo ne Siira; n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene n'abakyala abakulu si batono. 44ACT017.005 But the Jews which believed not, moved with envy, took unto them certain lewd fellows of the baser sort, and gathered a company, and set all the city on an uproar, and assaulted the house of Jason, and sought to bring them out to the people. %%% Naye Abayudaaya bwe baakwatibwa obuggya ne batwala abantu ababi ab'omu bakopi ne bakuŋŋaanyisa abantu ne basasamaza ekibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni ne baagala okubaleeta mu maaso g'abantu. 44ACT017.006 And when they found them not, they drew Jason and certain brethren unto the rulers of the city, crying, These that have turned the world upside down are come hither also; %%% Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti Bano abavuunika ensi bazze ne wano; 44ACT017.007 Whom Jason hath received: and these all do contrary to the decrees of Caesar, saying that there is another king, one Jesus. %%% ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti Waliwo kabaka omulala, Yesu. 44ACT017.008 And they troubled the people and the rulers of the city, when they heard these things. %%% Ne basasamaza ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo. 44ACT017.009 And when they had taken security of Jason, and of the other, they let them go. %%% Bwe baamala okweyimiriza Yasooni n'abalala, ne babata. 44ACT017.010 And the brethren immediately sent away Paul and Silas by night unto Berea: who coming thither went into the synagogue of the Jews. %%% Amangu ago ab'oluganda ne basindika ekiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya. 44ACT017.011 These were more noble than those in Thessalonica, in that they received the word with all readiness of mind, and searched the scriptures daily, whether those things were so. %%% Naye bano baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo. 44ACT017.012 Therefore many of them believed; also of honourable women which were Greeks, and of men, not a few. %%% Abamu bangi kyebaava bakkiriza, era n'abakazi abakyala Abayonaani n'abasajja si batono. 44ACT017.013 But when the Jews of Thessalonica had knowledge that the word of God was preached of Paul at Berea, they came thither also, and stirred up the people. %%% Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo era mu Beroya, era ne bajjayo ne baweerera ebibiina ne babasasamaza. 44ACT017.014 And then immediately the brethren sent away Paul to go as it were to the sea: but Silas and Timotheus abode there still. %%% Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda okutuuka ku nnyanja: Siira ne Timoseewo ne babeera eyo. 44ACT017.015 And they that conducted Paul brought him unto Athens: and receiving a commandment unto Silas and Timotheus for to come to him with all speed, they departed. %%% Naye abaawerekera Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okugamba Siira ne Timoseewo bajje gy'ali amangu nga bwe bayinza, ne bagenda. 44ACT017.016 Now while Paul waited for them at Athens, his spirit was stirred in him, when he saw the city wholly given to idolatry. %%% Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kijjudde ebifaananyi. 44ACT017.017 Therefore disputed he in the synagogue with the Jews, and with the devout persons, and in the market daily with them that met with him. %%% Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga. 44ACT017.018 Then certain philosophers of the Epicureans, and of the Stoicks, encountered him. And some said, What will this babbler say? other some, He seemeth to be a setter forth of strange gods: because he preached unto them Jesus, and the resurrection. %%% Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono? Abamu ne bagamba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya: kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira. 44ACT017.019 And they took him, and brought him unto Areopagus, saying, May we know what this new doctrine, whereof thou speakest, is? %%% Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bagamba nti Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli? 44ACT017.020 For thou bringest certain strange things to our ears: we would know therefore what these things mean. %%% Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g'ebigambo bino. 44ACT017.021 (For all the Athenians and strangers which were there spent their time in nothing else, but either to tell, or to hear some new thing.) %%% (Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba okuwuliranga ekigambo ekiggya.) 44ACT017.022 Then Paul stood in the midst of Mars' hill, and said, Ye men of Athens, I perceive that in all things ye are too superstitious. %%% Pawulo n'ayimirira wakati wa Aleyopaago n'agamba nti Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale. 44ACT017.023 For as I passed by, and beheld your devotions, I found an altar with this inscription, TO THE UNKNOWN GOD. Whom therefore ye ignorantly worship, him declare I unto you. %%% Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira. 44ACT017.024 God that made the world and all things therein, seeing that he is Lord of heaven and earth, dwelleth not in temples made with hands; %%% Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono, 44ACT017.025 Neither is worshipped with men's hands, as though he needed any thing, seeing he giveth to all life, and breath, and all things; %%% so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna; 44ACT017.026 And hath made of one blood all nations of men for to dwell on all the face of the earth, and hath determined the times before appointed, and the bounds of their habitation; %%% yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe: 44ACT017.027 That they should seek the Lord, if haply they might feel after him, and find him, though he be not far from every one of us: %%% banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe: 44ACT017.028 For in him we live, and move, and have our being; as certain also of your own poets have said, For we are also his offspring. %%% kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye. 44ACT017.029 Forasmuch then as we are the offspring of God, we ought not to think that the Godhead is like unto gold, or silver, or stone, graven by art and man's device. %%% Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu. 44ACT017.030 And the times of this ignorance God winked at; but now commandeth all men every where to repent: %%% Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya, 44ACT017.031 Because he hath appointed a day, in the which he will judge the world in righteousness by that man whom he hath ordained; whereof he hath given assurance unto all men, in that he hath raised him from the dead. %%% kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu. 44ACT017.032 And when they heard of the resurrection of the dead, some mocked: and others said, We will hear thee again of this matter. %%% Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋoola; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo. 44ACT017.033 So Paul departed from among them. %%% Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati. 44ACT017.034 Howbeit certain men clave unto him, and believed: among the which was Dionysius the Areopagite, and a woman named Damaris, and others with them. %%% Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukazi erinnya lye Damali, n’abalala wamu nabo. 44ACT018.001 After these things Paul departed from Athens, and came to Corinth; %%% Awo oluvannyuma lw'ebyo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso. 44ACT018.002 And found a certain Jew named Aquila, born in Pontus, lately come from Italy, with his wife Priscilla; (because that Claudius had commanded all Jews to depart from Rome:) and came unto them. %%% N'alaba omuntu Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali; 44ACT018.003 And because he was of the same craft, he abode with them, and wrought: for by their occupation they were tentmakers. %%% era kubanga baalina omulimu gumu n'abeeranga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe baali bakozi ba weema. 44ACT018.004 And he reasoned in the synagogue every sabbath, and persuaded the Jews and the Greeks. %%% N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani. 44ACT018.005 And when Silas and Timotheus were come from Macedonia, Paul was pressed in the spirit, and testified to the Jews that Jesus was Christ. %%% Naye Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo. 44ACT018.006 And when they opposed themselves, and blasphemed, he shook his raiment, and said unto them, Your blood be upon your own heads; I am clean: from henceforth I will go unto the Gentiles. %%% Bwe baamutangira ne bamuvuma, n’akunkumula engoye ze n'abagamba nti Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe: nze ndi mulongoofu: okutanula kaakano nnaagenda eri ab'amawanga. 44ACT018.007 And he departed thence, and entered into a certain man's house, named Justus, one that worshipped God, whose house joined hard to the synagogue. %%% N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye eriraanye ekkuŋŋaniro. 44ACT018.008 And Crispus, the chief ruler of the synagogue, believed on the Lord with all his house; and many of the Corinthians hearing believed, and were baptized. %%% Era Kulisupo, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa. 44ACT018.009 Then spake the Lord to Paul in the night by a vision, Be not afraid, but speak, and hold not thy peace: %%% Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti Totya naye yogeranga, tosirikanga, 44ACT018.010 For I am with thee, and no man shall set on thee to hurt thee: for I have much people in this city. %%% kubanga nze ndi wamu naawe; so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno. 44ACT018.011 And he continued there a year and six months, teaching the word of God among them. %%% N'amalayo mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo. 44ACT018.012 And when Gallio was the deputy of Achaia, the Jews made insurrection with one accord against Paul, and brought him to the judgment seat, %%% Naye Galiyo bwe yali nga ye wessaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango, 44ACT018.013 Saying, This fellow persuadeth men to worship God contrary to the law. %%% nga bagamba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng'amateeka bwe gatalagira. 44ACT018.014 And when Paul was now about to open his mouth, Gallio said unto the Jews, If it were a matter of wrong or wicked lewdness, O ye Jews, reason would that I should bear with you: %%% Naye Pawulo bwe yali agenda okwasama akamwa ke, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona okubi, mmwe Abayudaaya, nandibagumiikirizza: 44ACT018.015 But if it be a question of words and names, and of your law, look ye to it; for I will be no judge of such matters. %%% naye oba nga waliwo okubuuzagana okw'ebigambo: n'amannya n'amateeka agali mu mmwe, ekyo kyammwe: nze saagala kusala musango gw'ebyo. 44ACT018.016 And he drave them from the judgment seat. %%% N'abagoba awasalirwa emisango. 44ACT018.017 Then all the Greeks took Sosthenes, the chief ruler of the synagogue, and beat him before the judgment seat. And Gallio cared for none of those things. %%% Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafaayo mu bigambo ebyo. 44ACT018.018 And Paul after this tarried there yet a good while, and then took his leave of the brethren, and sailed thence into Syria, and with him Priscilla and Aquila; having shorn his head in Cenchrea: for he had a vow. %%% Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'awanika amatanga okugenda e Busuuli, era wamu naye Pulisikira ne Akula; bwe yamala okumwera enviiri mu Kekereya; kubanga yeerayirira. 44ACT018.019 And he came to Ephesus, and left them there: but he himself entered into the synagogue, and reasoned with the Jews. %%% Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya. 44ACT018.020 When they desired him to tarry longer time with them, he consented not; %%% Bwe baamwagala okweyongera okutuula n'atakkiriza; 44ACT018.021 But bade them farewell, saying, I must by all means keep this feast that cometh in Jerusalem: but I will return again unto you, if God will. And he sailed from Ephesus. %%% naye n'abasiibula n'agamba nti Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde, n'awanika amatanga n'avaayo mu Efeso. 44ACT018.022 And when he had landed at Caesarea, and gone up, and saluted the church, he went down to Antioch. %%% N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya. 44ACT018.023 And after he had spent some time there, he departed, and went over all the country of Galatia and Phrygia in order, strengthening all the disciples. %%% Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna. 44ACT018.024 And a certain Jew named Apollos, born at Alexandria, an eloquent man, and mighty in the scriptures, came to Ephesus. %%% Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezandereya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa. 44ACT018.025 This man was instructed in the way of the Lord; and being fervent in the spirit, he spake and taught diligently the things of the Lord, knowing only the baptism of John. %%% Oyo yali ng'abuuliddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, ng'amanyi okubatiza kwa Yokaana kwokka: 44ACT018.026 And he began to speak boldly in the synagogue: whom when Aquila and Priscilla had heard, they took him unto them, and expounded unto him the way of God more perfectly. %%% oyo n'atanula okwogera n'obugumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawulira ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda. 44ACT018.027 And when he was disposed to pass into Achaia, the brethren wrote, exhorting the disciples to receive him: who, when he was come, helped them much which had believed through grace: %%% Bwe yayagala okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa: 44ACT018.028 For he mightily convinced the Jews, and that publickly, shewing by the scriptures that Jesus was Christ. %%% kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo. 44ACT019.001 And it came to pass, that, while Apollos was at Corinth, Paul having passed through the upper coasts came to Ephesus: and finding certain disciples, %%% Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso, Pawulo bwe yayitira mu njuyi eziri waggulu n'atuuka mu Efeso n'asanga abayigirizwa abamu: 44ACT019.002 He said unto them, Have ye received the Holy Ghost since ye believed? And they said unto him, We have not so much as heard whether there be any Holy Ghost. %%% n'abagamba nti Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu bwe mwakkiriza? Ne bamugamba nti Nedda, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu. 44ACT019.003 And he said unto them, Unto what then were ye baptized? And they said, Unto John's baptism. %%% N'agamba nti Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki? Ne bagamba nti Mu kubatizibwa kwa Yokaana. 44ACT019.004 Then said Paul, John verily baptized with the baptism of repentance, saying unto the people, that they should believe on him which should come after him, that is, on Christ Jesus. %%% Pawulo n'ayogera nti Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja ennyuma we, ye Yesu. 44ACT019.005 When they heard this, they were baptized in the name of the Lord Jesus. %%% Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 44ACT019.006 And when Paul had laid his hands upon them, the Holy Ghost came on them; and they spake with tongues, and prophesied. %%% Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi ne balagula. 44ACT019.007 And all the men were about twelve. %%% Abantu bonna baali nga kkumi na babiri. 44ACT019.008 And he went into the synagogue, and spake boldly for the space of three months, disputing and persuading the things concerning the kingdom of God. %%% N'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayogeranga n'obuvumu okumala emyezi esatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga olw'ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda. 44ACT019.009 But when divers were hardened, and believed not, but spake evil of that way before the multitude, he departed from them, and separated the disciples, disputing daily in the school of one Tyrannus. %%% Naye abamu bwe baakakanyala ne batawulira, nga bavumanga Ekkubo mu maaso g'ekibiina, n'ava gye baali, n'ayawula abayigirizwa, ng'awakaniranga buli lunaku mu ssomero lya Tulaano. 44ACT019.010 And this continued by the space of two years; so that all they which dwelt in Asia heard the word of the Lord Jesus, both Jews and Greeks. %%% Ebyo ne bimala emyaka ebiri, ne bonna abaali batuula mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waffe, Abayudaaya n'Abayonaani. 44ACT019.011 And God wrought special miracles by the hands of Paul: %%% Katonda n'akolanga eby'amagero ebitalabwa buli lunaku mu mikono gya Pawulo, 44ACT019.012 So that from his body were brought unto the sick handkerchiefs or aprons, and the diseases departed from them, and the evil spirits went out of them. %%% n'abalwadde ne baleeterwanga ebiremba n'engoye ez'oku mubiri gwe, endwadde ne zibavangako, dayimooni n'abavangako. 44ACT019.013 Then certain of the vagabond Jews, exorcists, took upon them to call over them which had evil spirits the name of the LORD Jesus, saying, We adjure you by Jesus whom Paul preacheth. %%% Naye era abantu Abayudaaya abataliiko waabwe, abagoba dayimooni, ne beetulinkirira okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti Mbalayiza Yesu Pawulo gw'abuulira. 44ACT019.014 And there were seven sons of one Sceva, a Jew, and chief of the priests, which did so. %%% Awo waaliwo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakola bwe batyo. 44ACT019.015 And the evil spirit answered and said, Jesus I know, and Paul I know; but who are ye? %%% Dayimooni n'addamu n'abagamba nti Yesu mmutegeera ne Pawulo mmumanyi; naye mmwe be ani? 44ACT019.016 And the man in whom the evil spirit was leaped on them, and overcame them, and prevailed against them, so that they fled out of that house naked and wounded. %%% Omuntu eyaliko dayimooni n'ababuukira n'abasinga bonna n'abayinza, n'okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu. 44ACT019.017 And this was known to all the Jews and Greeks also dwelling at Ephesus; and fear fell on them all, and the name of the Lord Jesus was magnified. %%% Ekyo ne kitegeerwa bonna Abayudaaya n'Abayonaani abaatuulanga mu Efeso; entiisa n'ebakwata bonna, erinnya lya Mukama waffe Yesu ne ligulumizibwa. 44ACT019.018 And many that believed came, and confessed, and shewed their deeds. %%% Era bangi ku bo abakkiriza ne bajja, ne baatula ne bategeeza ebikolwa byabwe. 44ACT019.019 Many of them also which used curious arts brought their books together, and burned them before all men: and they counted the price of them, and found it fifty thousand pieces of silver. %%% Era bangi ku bo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna: ne babala omuwendo gwabyo ne balaba ebitundu bya ffeeza obukumi butaano. 44ACT019.020 So mightily grew the word of God and prevailed. %%% Bwe kityo ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula. 44ACT019.021 After these things were ended, Paul purposed in the spirit, when he had passed through Macedonia and Achaia, to go to Jerusalem, saying, After I have been there, I must also see Rome. %%% Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n'okugenda e Yerusaalemi, ng'agamba nti Bwe ndimala okubeera eyo, era kiŋŋwanidde okulaba ne Ruumi. 44ACT019.022 So he sent into Macedonia two of them that ministered unto him, Timotheus and Erastus; but he himself stayed in Asia for a season. %%% N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye yennyini n'alwayo ebiro si bingi mu Asiya. 44ACT019.023 And the same time there arose no small stir about that way. %%% Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwano si katono olw'Ekkubo. 44ACT019.024 For a certain man named Demetrius, a silversmith, which made silver shrines for Diana, brought no small gain unto the craftsmen; %%% Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi n'afuniranga abaweesi amagoba si matono; 44ACT019.025 Whom he called together with the workmen of like occupation, and said, Sirs, ye know that by this craft we have our wealth. %%% n'akuŋŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'agamba nti Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva; 44ACT019.026 Moreover ye see and hear, that not alone at Ephesus, but almost throughout all Asia, this Paul hath persuaded and turned away much people, saying that they be no gods, which are made with hands: %%% mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye nga mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng'agamba nti Abakolebwa n'emikono si bakatonda. 44ACT019.027 So that not only this our craft is in danger to be set at nought; but also that the temple of the great goddess Diana should be despised, and her magnificence should be destroyed, whom all Asia and the world worshippeth. %%% Naye si ffe fekka tulabye akabi omulimu gwaffe okunyoomebwanga, era naye n'essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n'oyo n'okuggibwa n'aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n'ensi zonna. 44ACT019.028 And when they heard these sayings, they were full of wrath, and cried out, saying, Great is Diana of the Ephesians. %%% Bwe baawulira ne bajjula obusungu ne boogerera waggulu nga bagamba nti Atemi w'Abaefeso mukulu. 44ACT019.029 And the whole city was filled with confusion: and having caught Gaius and Aristarchus, men of Macedonia, Paul's companions in travel, they rushed with one accord into the theatre. %%% Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu teyatero, bwe baamala okukwata Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo. 44ACT019.030 And when Paul would have entered in unto the people, the disciples suffered him not. %%% Pawulo bwe yayagala okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamukkiriza. 44ACT019.031 And certain of the chief of Asia, which were his friends, sent unto him, desiring him that he would not adventure himself into the theatre. %%% Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu teyatero. 44ACT019.032 Some therefore cried one thing, and some another: for the assembly was confused; and the more part knew not wherefore they were come together. %%% Abamu ne boogerera waggulu bulala, n'abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n'abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza. 44ACT019.033 And they drew Alexander out of the multitude, the Jews putting him forward. And Alexander beckoned with the hand, and would have made his defence unto the people. %%% Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ayagala okwennyonnyola eri abantu. 44ACT019.034 But when they knew that he was a Jew, all with one voice about the space of two hours cried out, Great is Diana of the Ephesians. %%% Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi limu okumala ng'essaawa bbiri nti Atemi w'Abaefeso mukulu. 44ACT019.035 And when the townclerk had appeased the people, he said, Ye men of Ephesus, what man is there that knoweth not how that the city of the Ephesians is a worshipper of the great goddess Diana, and of the image which fell down from Jupiter? %%% Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n'agamba nti Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu. 44ACT019.036 Seeing then that these things cannot be spoken against, ye ought to be quiet, and to do nothing rashly. %%% Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwanidde mmwe okukkakkana n'obutakola kintu mu kwanguyiriza. 44ACT019.037 For ye have brought hither these men, which are neither robbers of churches, nor yet blasphemers of your goddess. %%% Kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo so era tebavvodde katonda waffe omukazi. 44ACT019.038 Wherefore if Demetrius, and the craftsmen which are with him, have a matter against any man, the law is open, and there are deputies: let them implead one another. %%% Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko weeziri n'abaamasaza weebali: baloopagane. 44ACT019.039 But if ye enquire any thing concerning other matters, it shall be determined in a lawful assembly. %%% Naye oba nga munoonya birala, binaasalirwa mu kkuŋŋaaniro eribaawo bulijjo. 44ACT019.040 For we are in danger to be called in question for this day's uproar, there being no cause whereby we may give an account of this concourse. %%% Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw'akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw'okukuŋŋaana kuno. 44ACT019.041 And when he had thus spoken, he dismissed the assembly. %%% Bwe yayogera bw'atyo n'ayabulula ekibiina. 44ACT020.001 And after the uproar was ceased, Paul called unto him the disciples, and embraced them, and departed for to go into Macedonia. %%% Akacwano bwe kamala okukkakkana, Pawulo n'ayita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okugenda e Makedoni. 44ACT020.002 And when he had gone over those parts, and had given them much exhortation, he came into Greece, %%% Bwe yayita mu njuyi ziri n'abategeeza ebigambo bingi, n'atuuka e Buyonaani. 44ACT020.003 And there abode three months. And when the Jews laid wait for him, as he was about to sail into Syria, he purposed to return through Macedonia. %%% Bwe yamalayo emyezi esatu, era Abayudaaya bwe baamusalira olukwe, bwe yali ng'agenda okuyita mu nnyanja okuddayo mu Makedoni. 44ACT020.004 And there accompanied him into Asia Sopater of Berea; and of the Thessalonians, Aristarchus and Secundus; and Gaius of Derbe, and Timotheus; and of Asia, Tychicus and Trophimus. %%% Ne bagenda naye okutuuka mu Asiya Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo; n'Abasessaloniika Alisutaluuko ne Sekundo; ne Gayo Omuderube ne Timoseewo; n'AbasiyaTukiko ne Tulofiimo. 44ACT020.005 These going before tarried for us at Troas. %%% Bano ne bakulembera ne batulindirira mu Tulowa. 44ACT020.006 And we sailed away from Philippi after the days of unleavened bread, and came unto them to Troas in five days; where we abode seven days. %%% Ffe ne tuva mu Firipi ne tuwanika amatanga oluvannyuma lw'ennaku ez'emigaati egitazimbulukuswa, ne tubatuukako mu Tulowa mu nnaku ttaano; gye twamala ennaku omusanvu. 44ACT020.007 And upon the first day of the week, when the disciples came together to break bread, Paul preached unto them, ready to depart on the morrow; and continued his speech until midnight. %%% Awo ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkya, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi. 44ACT020.008 And there were many lights in the upper chamber, where they were gathered together. %%% Ne wabaawo ettabaaza nnyingi mu kisenge ekya waggulu, mwe twakuŋŋaanira. 44ACT020.009 And there sat in a window a certain young man named Eutychus, being fallen into a deep sleep: and as Paul was long preaching, he sunk down with sleep, and fell down from the third loft, and was taken up dead. %%% Omulenzi erinnya lye Yutuko n'atuula mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi; awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ng'akwatiddwa otulo tungi n'ava mu nju ey'okusatu, n'agwa, n'alondebwa ng'afudde. 44ACT020.010 And Paul went down, and fell on him, and embracing him said, Trouble not yourselves; for his life is in him. %%% Pawulo n'akka n'amugwako n'amuwambaatira n'agamba nti Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwebuli munda. 44ACT020.011 When he therefore was come up again, and had broken bread, and eaten, and talked a long while, even till break of day, so he departed. %%% N'alinnya n'amenya omugaati n'alyako n'alwawo ng'akyanyumya okutuusa enkya, n'alyoka avaayo. 44ACT020.012 And they brought the young man alive, and were not a little comforted. %%% Ne baleeta omulenzi nga mulamu, ne basanyuka si katono. 44ACT020.013 And we went before to ship, and sailed unto Assos, there intending to take in Paul: for so had he appointed, minding himself to go afoot. %%% Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tugenda okutuuka e Aso, nga twagala eyo okusiika Pawulo: kubanga yali alagidde bw'atyo, ng'ayagala ye yennyini okuyita ku lukalu. 44ACT020.014 And when he met with us at Assos, we took him in, and came to Mitylene. %%% Bwe yatusanga mu Aso ne tumusiika, ne tuja e Mituleene. 44ACT020.015 And we sailed thence, and came the next day over against Chios; and the next day we arrived at Samos, and tarried at Trogyllium; and the next day we came to Miletus. %%% Ne tuwanika amatanga okuvaayo ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka mu maaso ga Kiyo; ku Iw'okusatu ne tugoba ku Samo; ku lw'okuna ne tutuuka mu Mireeto. 44ACT020.016 For Paul had determined to sail by Ephesus, because he would not spend the time in Asia: for he hasted, if it were possible for him, to be at Jerusalem the day of Pentecost. %%% Kubanga Pawulo yasiima okuyitira mu Efeso mu kyombo, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote. 44ACT020.017 And from Miletus he sent to Ephesus, and called the elders of the church. %%% Bwe yali mu Mireeto n'atuma, mu Efeso n'ayita abakadde b'ekkanisa. 44ACT020.018 And when they were come to him, he said unto them, Ye know, from the first day that I came into Asia, after what manner I have been with you at all seasons, %%% Bwe baatuuka gy'ali n'abagamba nti Mmwe mumanyi okuva ku lunaku olw'olubereberye bwe nnalinnya mu Asiya, bwe nnabanga nammwe mui biro byonna, 44ACT020.019 Serving the LORD with all humility of mind, and with many tears, and temptations, which befell me by the lying in wait of the Jews: %%% nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okukemebwa kwe nnalaba mu nkwe z'Abayudaaya: 44ACT020.020 And how I kept back nothing that was profitable unto you, but have shewed you, and have taught you publickly, and from house to house, %%% bwe sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n'okubayigiririzanga mu maaso g'abantu ne mu buli nju, 44ACT020.021 Testifying both to the Jews, and also to the Greeks, repentance toward God, and faith toward our Lord Jesus Christ. %%% nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katoada n'okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo. 44ACT020.022 And now, behold, I go bound in the spirit unto Jerusalem, not knowing the things that shall befall me there: %%% Kaakano, laba, bwe nsibiddwa mu mwoyo, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi bye ndiraba eyo, 44ACT020.023 Save that the Holy Ghost witnesseth in every city, saying that bonds and afflictions abide me. %%% wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza mu buli kibuga; ng'agamba nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde. 44ACT020.024 But none of these things move me, neither count I my life dear unto myself, so that I might finish my course with joy, and the ministry, which I have received of the Lord Jesus, to testify the gospel of the grace of God. %%% Naye obulamu bwange sibulowooza nga kintu, nga bwa muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga enjiri ey'ekisa kya Katonda. 44ACT020.025 And now, behold, I know that ye all, among whom I have gone preaching the kingdom of God, shall see my face no more. %%% Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyandaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka. 44ACT020.026 Wherefore I take you to record this day, that I am pure from the blood of all men. %%% Kyenva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna, 44ACT020.027 For I have not shunned to declare unto you all the counsel of God. %%% kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna. 44ACT020.028 Take heed therefore unto yourselves, and to all the flock, over the which the Holy Ghost hath made you overseers, to feed the church of God, which he hath purchased with his own blood. %%% Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini. 44ACT020.029 For I know this, that after my departing shall grievous wolves enter in among you, not sparing the flock. %%% Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo; 44ACT020.030 Also of your own selves shall men arise, speaking perverse things, to draw away disciples after them. %%% era mu mmwe mwekka muliva abantu ngaboogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe. 44ACT020.031 Therefore watch, and remember, that by the space of three years I ceased not to warn every one night and day with tears. %%% Kale mutunule, mujjukire nga saalekanga kulabula n'amaziga buli muntu mu myaka esatu emisana n'ekiro. 44ACT020.032 And now, brethren, I commend you to God, and to the word of his grace, which is able to build you up, and to give you an inheritance among all them which are sanctified. %%% Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abatukuzibwa. 44ACT020.033 I have coveted no man's silver, or gold, or apparel. %%% Seegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo. 44ACT020.034 Yea, ye yourselves know, that these hands have ministered unto my necessities, and to them that were with me. %%% Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange. 44ACT020.035 I have shewed you all things, how that so labouring ye ought to support the weak, and to remember the words of the Lord Jesus, how he said, It is more blessed to give than to receive. %%% Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola. 44ACT020.036 And when he had thus spoken, he kneeled down, and prayed with them all. %%% Bwe yayogera bw'atyo n'afukamira n'asabira wamu nabo bonna. 44ACT020.037 And they all wept sore, and fell on Paul's neck, and kissed him, %%% Ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu bulago Pawulo ne bamunywegera, 44ACT020.038 Sorrowing most of all for the words which he spake, that they should see his face no more. And they accompanied him unto the ship. %%% nga banakuwala okusinga byonna olw'ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo. 44ACT021.001 And it came to pass, that after we were gotten from them, and had launched, we came with a straight course unto Coos, and the day following unto Rhodes, and from thence unto Patara: %%% Awo olwatuuka bwe twamala okwawukana nabo ne tuvaayo, ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Koosi, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala. 44ACT021.002 And finding a ship sailing over unto Phenicia, we went aboard, and set forth. %%% Bwe twasanga ekyombo nga kiwunguka okugenda e Foyiniiki, ne tusaabala ne tugenda. 44ACT021.003 Now when we had discovered Cyprus, we left it on the left hand, and sailed into Syria, and landed at Tyre: for there the ship was to unlade her burden. %%% Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okusiikululira ebintu. 44ACT021.004 And finding disciples, we tarried there seven days: who said to Paul through the Spirit, that he should not go up to Jerusalem. %%% Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi. 44ACT021.005 And when we had accomplished those days, we departed and went our way; and they all brought us on our way, with wives and children, till we were out of the city: and we kneeled down on the shore, and prayed. %%% Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako n'abakazi n'abaana abato okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba; 44ACT021.006 And when we had taken our leave one of another, we took ship; and they returned home again. %%% ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye bo ne baddayo eka. 44ACT021.007 And when we had finished our course from Tyre, we came to Ptolemais, and saluted the brethren, and abode with them one day. %%% Naffe bwe twamala olugendo lwaffe okuva e Ttuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tulamusa ab'oluganda ne tumala nabo olunaku lumu. 44ACT021.008 And the next day we that were of Paul's company departed, and came unto Caesarea: and we entered into the house of Philip the evangelist, which was one of the seven; and abode with him. %%% Ku lunaku olw'okubiri ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo, omubuulizi w'enjiri, omu ku bali omusanvu, ne tutuula naye. 44ACT021.009 And the same man had four daughters, virgins, which did prophesy. %%% Naye oyo yalina abawala bana abatamanyi musajja abaalagulanga. 44ACT021.010 And as we tarried there many days, there came down from Judaea a certain prophet, named Agabus. %%% Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo. 44ACT021.011 And when he was come unto us, he took Paul's girdle, and bound his own hands and feet, and said, Thus saith the Holy Ghost, So shall the Jews at Jerusalem bind the man that owneth this girdle, and shall deliver him into the hands of the Gentiles. %%% N'ajja gye tuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga. 44ACT021.012 And when we heard these things, both we, and they of that place, besought him not to go up to Jerusalem. %%% Bwe twawulira ebyo, ffe era n'abantu ab'omu kifo kiri ne tumwegayirira aleme okulinnya mu Yerusaalemi. 44ACT021.013 Then Paul answered, What mean ye to weep and to break mine heart? for I am ready not to be bound only, but also to die at Jerusalem for the name of the Lord Jesus. %%% Awo Pawulo n'alyoka addamu nti Mukola ki okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu. 44ACT021.014 And when he would not be persuaded, we ceased, saying, The will of the Lord be done. %%% Bwe yalema okuwulira ne tulekayo nga tugamba nti Mukama waffe ky’ayagala kikolebwe. 44ACT021.015 And after those days we took up our carriages, and went up to Jerusalem. %%% Awo oluvannyuma lw'ennaku ezo ne tusitula emigugu ne tulinnya e Yerusaalemi. 44ACT021.016 There went with us also certain of the disciples of Caesarea, and brought with them one Mnason of Cyprus, an old disciple, with whom we should lodge. %%% Era n'abayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, ne baleeta omuntu Munasoni ow'e Kupulo omuyigirizwa ow'edda, agenda okutusuza. 44ACT021.017 And when we were come to Jerusalem, the brethren received us gladly. %%% Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batusembeza n'essanyu. 44ACT021.018 And the day following Paul went in with us unto James; and all the elders were present. %%% Ku lunaku olw'okubiri Pawulo n'ayingira wamu naffe omwa Yakobo; era n'abakadde bonna baaliwo. 44ACT021.019 And when he had saluted them, he declared particularly what things God had wrought among the Gentiles by his ministry. %%% Bwe yamala okubalamusa n'ababuulira kinnakimu Katonda bye yakolanga mu mawanga mu kuweereza kwe. 44ACT021.020 And when they heard it, they glorified the Lord, and said unto him, Thou seest, brother, how many thousands of Jews there are which believe; and they are all zealous of the law: %%% Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti Olaba, ow'oluganda, enkumi bwe ziri mu Bayudaaya abantu abakkiriza; nabo bonna balina obuggya obw'amateeka: 44ACT021.021 And they are informed of thee, that thou teachest all the Jews which are among the Gentiles to forsake Moses, saying that they ought not to circumcise their children, neither to walk after the customs. %%% abo babuulirwa ebigambo byo nti ggwe oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu mawanga okuleka Musa, ng'ogamba baleme okukomolanga abaana abato newakubadde okutambuliranga mu mpisa. 44ACT021.022 What is it therefore? the multitude must needs come together: for they will hear that thou art come. %%% Kale kiki kino? Tebaaleme kuwulira ng'ozze. 44ACT021.023 Do therefore this that we say to thee: We have four men which have a vow on them; %%% Kale kola nga bwe tukugamba: tulina abasajja bana abeerayirira ekirayiro; 44ACT021.024 Them take, and purify thyself with them, and be at charges with them, that they may shave their heads: and all may know that those things, whereof they were informed concerning thee, are nothing; but that thou thyself also walkest orderly, and keepest the law. %%% obatwale abo otukuzibwe wamu nabo, obawe effeeza beemwe emitwe: bonna banaategeera ng'ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng'okwata amateeka. 44ACT021.025 As touching the Gentiles which believe, we have written and concluded that they observe no such thing, save only that they keep themselves from things offered to idols, and from blood, and from strangled, and from fornication. %%% Naye ab'amawanga abakkiriza twawandiika ne tusala omusango nti beekuumenga mu bintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiddwa n'obwenzi. 44ACT021.026 Then Paul took the men, and the next day purifying himself with them entered into the temple, to signify the accomplishment of the days of purification, until that an offering should be offered for every one of them. %%% Awo Pawulo n'alyoka atwala abantu, ku lunaku olw'okubiri n'atukuzibwa wamu nabo n'ayingira mu yeekaalu okulaga ennaku ez'okutukuza bwe zituuse, okutuusa ekiweebwayo lwe kyaweebwayo olwa buli omu ku bo. 44ACT021.027 And when the seven days were almost ended, the Jews which were of Asia, when they saw him in the temple, stirred up all the people, and laid hands on him, %%% Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okutuuka, Abayudaaya abaava mu Asiya ne bamulaba mu yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata, 44ACT021.028 Crying out, Men of Israel, help: This is the man, that teacheth all men every where against the people, and the law, and this place: and further brought Greeks also into the temple, and hath polluted this holy place. %%% nga boogerera waggulu nti Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye muntu oli ayigiriza bonna buli kifo obubi ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu. 44ACT021.029 (For they had seen before with him in the city Trophimus an Ephesian, whom they supposed that Paul had brought into the temple.) %%% Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omuwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bateerera nti Pawulo amuleese mu yeekaalu. 44ACT021.030 And all the city was moved, and the people ran together: and they took Paul, and drew him out of the temple: and forthwith the doors were shut. %%% Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mbiro; ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa yeekaalu: amangu ago enzigi ne ziggalwawo. 44ACT021.031 And as they went about to kill him, tidings came unto the chief captain of the band, that all Jerusalem was in an uproar. %%% Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde. 44ACT021.032 Who immediately took soldiers and centurions, and ran down unto them: and when they saw the chief captain and the soldiers, they left beating of Paul. %%% Amangu ago n'atwala basserikale n'abaami n'aserengeta gye baali mbiro: nabo bwe baalaba omwami omukulu n'abaserikale ne baleka okukuba Pawulo. 44ACT021.033 Then the chief captain came near, and took him, and commanded him to be bound with two chains; and demanded who he was, and what he had done. %%% Awo omwami omukulu n'alyoka asembera n'amukwata n'alagira okumusibya enjegere bbiri; n'abuuza nti ye ani, ne ky'akoze ki. 44ACT021.034 And some cried one thing, some another, among the multitude: and when he could not know the certainty for the tumult, he commanded him to be carried into the castle. %%% Abamu ab'omu kibiina ne boogerera waggulu bulala abalala bulala: bw'ataayinza kutegeera mazima olw'okuleekaana, n'alagira okumutwala mu kigo. 44ACT021.035 And when he came upon the stairs, so it was, that he was borne of the soldiers for the violence of the people. %%% Bwe yatuuka ku madaala, n'alyoka asitulibwa basserikale olw'amaanyi g'ekibiina: 44ACT021.036 For the multitude of the people followed after, crying, Away with him. %%% kubanga ekibiina ky'abantu baali bagoberera nga boogerera waggulu nti Mutte. 44ACT021.037 And as Paul was to be led into the castle, he said unto the chief captain, May I speak unto thee? Who said, Canst thou speak Greek? %%% Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo n'agamba omwami omukulu nti Kirungi mbeeko kye nkubuulira? N'agamba nti Omanyi Oluyonaani? 44ACT021.038 Art not thou that Egyptian, which before these days madest an uproar, and leddest out into the wilderness four thousand men that were murderers? %%% Kale si ggwe Mumisiri oli mu nnaku ezaayita eyajeemesa abantu enkumi ennya ku Batemu bali, n'abatwala mu ddungu? 44ACT021.039 But Paul said, I am a man which am a Jew of Tarsus, a city in Cilicia, a citizen of no mean city: and, I beseech thee, suffer me to speak unto the people. %%% Naye Pawulo n’agamba nti Nze ndi muntu Muyudaaya, ow’e Taluso eky’omu Kirukiya, si wa mu kibuga ekitali kimanyifu: era nkwegayiridde, ndeka njogere n'abantu. 44ACT021.040 And when he had given him licence, Paul stood on the stairs, and beckoned with the hand unto the people. And when there was made a great silence, he spake unto them in the Hebrew tongue, saying, %%% Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala n'awenya n'omukono abantu: bwe baamala okusiriikirira ddala, n'ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng'agamba nti 44ACT022.001 Men, brethren, and fathers, hear ye my defence which I make now unto you. %%% Abasajja ab'oluganda ne bassebo, muwulire ensonga gye mbawoleza kaakano. 44ACT022.002 (And when they heard that he spake in the Hebrew tongue to them, they kept the more silence: and he saith,) %%% Bwe baawulira ng'abagambye mu lulimi Olwebbulaniya ne beeyongera okusirika: n'agamba nti 44ACT022.003 I am verily a man which am a Jew, born in Tarsus, a city in Cilicia, yet brought up in this city at the feet of Gamaliel, and taught according to the perfect manner of the law of the fathers, and was zealous toward God, as ye all are this day. %%% Nze ndi muntu Muyudaaya, eyazaalirwa mu Taluso eky'omu Kirukiya, naye eyalererwa mu kibuga muno ku bigere bya Gamalyeri, eyayigirizibwa ennyo mu mpisa z'amateeka ga bajjajja, ne mbeeranga n'obuggya bwa Katonda nga mmwe mwenna bwe muli leero: 44ACT022.004 And I persecuted this way unto the death, binding and delivering into prisons both men and women. %%% ne njigganyanga ab'Ekkubo lino n'okubatta, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasajja n'abakazi; 44ACT022.005 As also the high priest doth bear me witness, and all the estate of the elders: from whom also I received letters unto the brethren, and went to Damascus, to bring them which were there bound unto Jerusalem, for to be punished. %%% era ne kabona asinga obukulu ye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakadde bonna: era nabo ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okugenda e Ddamasiko abo abaali eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe. 44ACT022.006 And it came to pass, that, as I made my journey, and was come nigh unto Damascus about noon, suddenly there shone from heaven a great light round about me. %%% Awo olwatuuka bwe nnali nga ntambula nga nnaatera okutuuka e Ddamasiko, nga mu ttuntu, amangu ago omusana mungi ogwava mu ggulu ne gwaka ne gunneetooloola; 44ACT022.007 And I fell unto the ground, and heard a voice saying unto me, Saul, Saul, why persecutest thou me? %%% ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? 44ACT022.008 And I answered, Who art thou, Lord? And he said unto me, I am Jesus of Nazareth, whom thou persecutest. %%% Nze ne nziramu nti Ggwe ani, Mukama wange? N'aŋŋamba nti Nze Yesu Omunazaaleesi gw'oyigganya ggwe. 44ACT022.009 And they that were with me saw indeed the light, and were afraid; but they heard not the voice of him that spake to me. %%% Abaali awamu nange ne balaba omusana, naye ne batawulira ddoboozi ly'oyo eyayogera nange. 44ACT022.010 And I said, What shall I do, LORD? And the Lord said unto me, Arise, and go into Damascus; and there it shall be told thee of all things which are appointed for thee to do. %%% Ne ŋŋamba nti Nnaakola ntya, Mukama wange? Mukama waffe n'aŋŋamba nti Golokoka, ogende e Ddamasiko, onoobuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonna by'olagiddwa okukola. 44ACT022.011 And when I could not see for the glory of that light, being led by the hand of them that were with me, I came into Damascus. %%% Bwe ssaayinza kulaba olw'ekitiibwa ky'omusana guli, ne nkwatibwa ku mukono abo abaali nange ne ntuuka mu Ddamasiko. 44ACT022.012 And one Ananias, a devout man according to the law, having a good report of all the Jews which dwelt there, %%% Omuntu omu erinnya lye Ananiya atya Katonda mu mateeka, eyasiimibwa Abayudaaya bonna abatuula eyo, 44ACT022.013 Came unto me, and stood, and said unto me, Brother Saul, receive thy sight. And the same hour I looked up upon him. %%% n'ajja gye ndi n'ayimirira we ndi n'aŋŋamba nti Ow'oluganda Sawulo, zibula. Mu kiseera ekyo ne nzibula okumutunuulira. 44ACT022.014 And he said, The God of our fathers hath chosen thee, that thou shouldest know his will, and see that Just One, and shouldest hear the voice of his mouth. %%% N'agamba nti Katonda wa bajjajjaffe yakulonda dda otegeere ebyo by'ayagala, era olabe Omutuukirivu oli, era owulire eddoboozi eriva mu kamwa ke. 44ACT022.015 For thou shalt be his witness unto all men of what thou hast seen and heard. %%% Kubanga onoobeeranga mujulirwa we eri abantu bonna ow'ebigambo by'olabye ne by'owulidde. 44ACT022.016 And now why tarriest thou? arise, and be baptized, and wash away thy sins, calling on the name of the Lord. %%% Kale kaakano ekikulwisa ki? Golokoka, obatizibwe onaaze ebibi byo, nga weegayirira erinnya lye. 44ACT022.017 And it came to pass, that, when I was come again to Jerusalem, even while I prayed in the temple, I was in a trance; %%% Awo olwatuuka bwe nnakomawo e Yerusaalemi, bwe nnali nga nsaba mu yeekaalu, omwoyo gwange ne guwaanyisibwa 44ACT022.018 And saw him saying unto me, Make haste, and get thee quickly out of Jerusalem: for they will not receive thy testimony concerning me. %%% ne mmulaba ng'aŋŋamba nti Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebalikkiriza kutegeeza kwo ku nze. 44ACT022.019 And I said, Lord, they know that I imprisoned and beat in every synagogue them that believed on thee: %%% Nange ne ŋŋamba nti Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti nze nnabateekanga mu makomera era nga nnabakubiranga mu buli kkuŋŋaaniro abakukkiriza: 44ACT022.020 And when the blood of thy martyr Stephen was shed, I also was standing by, and consenting unto his death, and kept the raiment of them that slew him. %%% era n'omusaayi ogw'omujulirwa wo Suteefano bwe gwayiibwa, nange kennyini nnali nga nnyimiridde awo, nga nsiimye, nga nkuuma ebyambalo byabwe abaamutta. 44ACT022.021 And he said unto me, Depart: for I will send thee far hence unto the Gentiles. %%% N'aŋŋamba nti Genda: kubanga nze ŋŋenda kukutuma wala mu b'amawanga. 44ACT022.022 And they gave him audience unto this word, and then lifted up their voices, and said, Away with such a fellow from the earth: for it is not fit that he should live. %%% Ne bamuwuliriza okutuusa ku kigambo kino, ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bagamba nti Aggibwe mu nsi afaanana bw'atyo: kubanga si kirungi abeere mulamu. 44ACT022.023 And as they cried out, and cast off their clothes, and threw dust into the air, %%% Bwe baali nga boogerera waggulu era nga bakasuka engoye zaabwe, era nga bafuumuulira waggulu enfuufu, 44ACT022.024 The chief captain commanded him to be brought into the castle, and bade that he should be examined by scourging; that he might know wherefore they cried so against him. %%% omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu kigo, ng'agamba okumukemereza n'emiggo alyoke ategeere ensonga gye bamulanze okwogerera waggulu ku ye bwe batyo. 44ACT022.025 And as they bound him with thongs, Paul said unto the centurion that stood by, Is it lawful for you to scourge a man that is a Roman, and uncondemned? %%% Bwe baali nga bamaze okumusibya enkoba, Pawulo n'agamba omwami eyali amuyimiridde okumpi nti Si kya muzizo mmwe okukuba omuntu Omuruumi nga tannaba kusalirwa musango? 44ACT022.026 When the centurion heard that, he went and told the chief captain, saying, Take heed what thou doest: for this man is a Roman. %%% Omwami bwe yawulira n'agenda eri omwami omukulu n'amubuulira ng'agamba nti Ogenda kukola ki? kubanga omuntu ono Muruumi. 44ACT022.027 Then the chief captain came, and said unto him, Tell me, art thou a Roman? He said, Yea. %%% Omwami omukulu n'agenda gy'ali, n'amugamba nti Mbuulira, ggwe oli Muruumi? N'agamba nti Yee. 44ACT022.028 And the chief captain answered, With a great sum obtained I this freedom. And Paul said, But I was free born. %%% Omwami omukulu n'addamu nti Nze nnafuna Oburuumi buno n'ebintu bingi. Pawulo n'agamba nti Naye nze mmwe nnazaalirwa. 44ACT022.029 Then straightway they departed from him which should have examined him: and the chief captain also was afraid, after he knew that he was a Roman, and because he had bound him. %%% Awo amangu ago ne balyoka bamuleka abaali bagenda okumukemereza: era n'omwami omukulu n'atya bwe yamala oku tegeera nga Muruumi, era kubanga amusibye. 44ACT022.030 On the morrow, because he would have known the certainty wherefore he was accused of the Jews, he loosed him from his bands, and commanded the chief priests and all their council to appear, and brought Paul down, and set him before them. %%% Naye ku lunaku olw'okubiri, bwe yayagala okumanya amazima ensonga Abayudaaya gye bamulanze okumuloopa, n'amusumulula n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna okukuŋŋaana, n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe. 44ACT023.001 And Paul, earnestly beholding the council, said, Men and brethren, I have lived in all good conscience before God until this day. %%% Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'olukiiko n'agamba nti Abasajja ab'oluganda, nze nneegendereza n'omwoyo gwonna omulungi mu maaso ga Katonda okutuusa ku lunaku luno. 44ACT023.002 And the high priest Ananias commanded them that stood by him to smite him on the mouth. %%% Pawulo n'alyoka amugamba nti Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira? 44ACT023.003 Then said Paul unto him, God shall smite thee, thou whited wall: for sittest thou to judge me after the law, and commandest me to be smitten contrary to the law? %%% Pawulo n'alyoka amugamba nti Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira? 44ACT023.004 And they that stood by said, Revilest thou God's high priest? %%% Abaali bamuyimiridde okumpi ne bagamba nti Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda? 44ACT023.005 Then said Paul, I wist not, brethren, that he was the high priest: for it is written, Thou shalt not speak evil of the ruler of thy people. %%% Pawulo n'agamba nti Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti Toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo. 44ACT023.006 But when Paul perceived that the one part were Sadducees , and the other Pharisees, he cried out in the council, Men and brethren, I am a Pharisee, the son of a Pharisee: of the hope and resurrection of the dead I am called in question. %%% Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo n'eky'okubiri kya Bafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti Abasajja ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu. 44ACT023.007 And when he had so said, there arose a dissension between the Pharisees and the Sadducees : and the multitude was divided. %%% Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu. 44ACT023.008 For the Sadducees say that there is no resurrection, neither angel, nor spirit: but the Pharisees confess both. %%% Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newakubadde malayika, newakubadde omuzimu: naye Abafalisaayo baatula byombi. 44ACT023.009 And there arose a great cry: and the scribes that were of the Pharisees' part arose, and strove, saying, We find no evil in this man: but if a spirit or an angel hath spoken to him, let us not fight against God. %%% Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba ng'omuzimu gwe gwogedde naye oba malayika? 44ACT023.010 And when there arose a great dissension, the chief captain, fearing lest Paul should have been pulled in pieces of them, commanded the soldiers to go down, and to take him by force from among them, and to bring him into the castle. %%% Bwe waabaawo okuyomba okungi, omwami omukulu ng'atya Pawulo nga bagenda okumukutulamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo olw'amaanyi, okumuleeta mu kigo. 44ACT023.011 And the night following the Lord stood by him, and said, Be of good cheer, Paul: for as thou hast testified of me in Jerusalem, so must thou bear witness also at Rome. %%% Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti Guma omwoyo: kuba nga bwe wategeeza ebigambo byange mu Yerusaalemi, era kikugwanidde okutegeeza bw'otyo ne mu Ruumi. 44ACT023.012 And when it was day, certain of the Jews banded together, and bound themselves under a curse, saying that they would neither eat nor drink till they had killed Paul. %%% Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo. 44ACT023.013 And they were more than forty which had made this conspiracy. %%% Abeekobaana bwe batyo ne basukka amakumi ana. 44ACT023.014 And they came to the chief priests and elders, and said, We have bound ourselves under a great curse, that we will eat nothing until we have slain Paul. %%% Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti Okwekolimira twekolimidde obutakomba ku kantu wabula nga tumaze kutta Pawulo. 44ACT023.015 Now therefore ye with the council signify to the chief captain that he bring him down unto you to morrow, as though ye would enquire something more perfectly concerning him: and we, or ever he come near, are ready to kill him. %%% Kale kaakano mmwe n'olukiiko mugambe omwami omukulu amuleete wansi gye muli ng'abaagala okwongera okumanya amazima g'ebigambo bye: naffe, anaaba nga tannaba kusembera, tweteeseteese okumutta. 44ACT023.016 And when Paul's sister's son heard of their lying in wait, he went and entered into the castle, and told Paul. %%% Naye omwana wa mwannyina wa Pawulo n'awulira olukwe luno, n'ajja n'ayingira mu kigo, n'abuulira Pawulo. 44ACT023.017 Then Paul called one of the centurions unto him, and said, Bring this young man unto the chief captain: for he hath a certain thing to tell him. %%% Pawulo n'ayita omu ku baami n'amugamba nti Twala omulenzi ono eri omwami omukulu; kubanga alina ekigambo okumubuulira. 44ACT023.018 So he took him, and brought him to the chief captain, and said, Paul the prisoner called me unto him, and prayed me to bring this young man unto thee, who hath something to say unto thee. %%% Awo oli n'amutwala n'amuleeta eri omwami omukulu n'agamba nti Pawulo omusibe yampise n'anneegayirira okukuleetera omulenzi ono, ng'alina ky'agenda okukubuulira. 44ACT023.019 Then the chief captain took him by the hand, and went with him aside privately, and asked him, What is that thou hast to tell me? %%% Omwami omukulu n'amukwata ku mukono ne yeeyawula mu kyama n'amubuuza nti Bigambo ki by'olina okumbuulira? 44ACT023.020 And he said, The Jews have agreed to desire thee that thou wouldest bring down Paul to morrow into the council, as though they would enquire somewhat of him more perfectly. %%% N'agamba nti Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye. 44ACT023.021 But do not thou yield unto them: for there lie in wait for him of them more than forty men, which have bound themselves with an oath, that they will neither eat nor drink till they have killed him: and now are they ready, looking for a promise from thee. %%% Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe bamuteeze okusinga amakumi ana abeekolimidde obutalya newakubadde okunywa wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okubasuubiza. 44ACT023.022 So the chief captain then let the young man depart, and charged him, See thou tell no man that thou hast shewed these things to me. %%% Awo omwami omukulu n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti Tobuulirako omuntu ng'ombuulidde ebigambo bino. 44ACT023.023 And he called unto him two centurions, saying, Make ready two hundred soldiers to go to Caesarea, and horsemen threescore and ten, and spearmen two hundred, at the third hour of the night; %%% N'ayita babiri ku baami n'agamba nti Mutegeke basserikale ebikumi bibiri okugenda e Kayisaliya, n'ab'oku mbalaasi nsanvu, n'ab'amafumu ebikumi bibiri, mu ssaawa ey'okusatu ey'ekiro; 44ACT023.024 And provide them beasts, that they may set Paul on, and bring him safe unto Felix the governor. %%% era babalabire ensolo balyoke beebagazeeko Pawulo era bamutwale mirembe eri Ferikisi owessaza. 44ACT023.025 And he wrote a letter after this manner: %%% N'awandiika ebbaluwa engeri eno nti 44ACT023.026 Claudius Lysias unto the most excellent governor Felix sendeth greeting. %%% Kulawudiyo Lusiya alamusizza owessaza omulungi ennyo Ferikisi, 44ACT023.027 This man was taken of the Jews, and should have been killed of them: then came I with an army, and rescued him, having understood that he was a Roman. %%% Omuntu oyo bwe yamala okukwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne njija n'ekitongole gye baali ne mbamuggyako, bwe nnategeera nga Muruumi. 44ACT023.028 And when I would have known the cause wherefore they accused him, I brought him forth into their council: %%% Era bwe nnayagala okutegeera ensonga gye bamulanze okumuloopa, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe. 44ACT023.029 Whom I perceived to be accused of questions of their law, but to have nothing laid to his charge worthy of death or of bonds. %%% Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa. 44ACT023.030 And when it was told me how that the Jews laid wait for the man, I sent straightway to thee, and gave commandment to his accusers also to say before thee what they had against him. Farewell. %%% Bwe bambuulira nti banaamusalira olukwe, amangu ago ne mmuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okumuloopera mu maaso go. 44ACT023.031 Then the soldiers, as it was commanded them, took Paul, and brought him by night to Antipatris. %%% Awo basserikale nga bwe baalagirwa ne batwala Pawulo ne bamuleeta mu kiro okutuuka mu Antipatuli. 44ACT023.032 On the morrow they left the horsemen to go with him, and returned to the castle: %%% Naye ku lunaku olw'okubiri ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda naye ne baddayo mu kigo: 44ACT023.033 Who, when they came to Caesarea, and delivered the epistle to the governor, presented Paul also before him. %%% abo bwe baatuuka e Kayisaliya ne bawa ebbaluwa owessaza era ne bamwanjulira Pawulo. 44ACT023.034 And when the governor had read the letter, he asked of what province he was. And when he understood that he was of Cilicia; %%% Bwe yamala okugisoma, n'abuuza essaza gye yava; bwe yabuulirwa nti yava mu Kirukiya, 44ACT023.035 I will hear thee, said he, when thine accusers are also come. And he commanded him to be kept in Herod's judgment hall. %%% n'agamba nti Ndikuwulira abakuloopa bwe balibaawo nabo: n'alagira okumukuumira mu nnyumba ya Kerode. 44ACT024.001 And after five days Ananias the high priest descended with the elders, and with a certain orator named Tertullus, who informed the governor against Paul. %%% Ennaku bwe zaayitawo ettaano, kabona asinga obukulu Ananiya n'aserengeta n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo Pawulo bye yaloopebwa. 44ACT024.002 And when he was called forth, Tertullus began to accuse him, saying, Seeing that by thee we enjoy great quietness, and that very worthy deeds are done unto this nation by thy providence, %%% Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atanula okumuloopa ng'agamba nti Kubanga twali tufunye emirembo mingi eri ggwe, n'ebigambo ebibi nga birongoosebbwa mu ggwanga lino olw'okulabirira kwo, 44ACT024.003 We accept it always, and in all places, most noble Felix, with all thankfulness. %%% tubikkiriza ennaku zonna ne mu bifo byonna, Ferikisi omulungi ennyo, n'okwebaza kwonna. 44ACT024.004 Notwithstanding, that I be not further tedious unto thee, I pray thee that thou wouldest hear us of thy clemency a few words. %%% Naye nneme okwongera okukukooya, nkwegayiridde otuwulire mu bigambo bitono olw'obulungi bwo. 44ACT024.005 For we have found this man a pestilent fellow, and a mover of sedition among all the Jews throughout the world, and a ringleader of the sect of the Nazarenes: %%% Kubanga twalaba omuntu ono nga mubi nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, era ye mukulu w'ekitundu ky'Abanazaaleesi: 44ACT024.006 Who also hath gone about to profane the temple: whom we took, and would have judged according to our law. %%% yagezaako okwonoona yeekaalu: ne tumukwata, ne twagala okumusalira omusango ng'amateeka gaffe bwe gali: 44ACT024.007 But the chief captain Lysias came upon us, and with great violence took him away out of our hands, %%% naye omwami omukulu Lusiya n'ajja n'atumuggyako mu mikono gyaffe n'amaanyi mangi, 44ACT024.008 Commanding his accusers to come unto thee: by examining of whom thyself mayest take knowledge of all these things, whereof we accuse him. %%% bwe yalagira abamuvunaana okujja gy'oli: bw'onoomwebuuliza wekka onooyinza okutegeera bino byonna bye tumuvunaana. 44ACT024.009 And the Jews also assented, saying that these things were so. %%% Era n'Abayudaaya ne bamuloopa bumu nga bagamba nti bwe bityo bwe biri. 44ACT024.010 Then Paul, after that the governor had beckoned unto him to speak, answered, Forasmuch as I know that thou hast been of many years a judge unto this nation, I do the more cheerfully answer for myself: %%% Awo owessaza bwe yamuwenya okwogera, Pawulo n'addamu nti Kubanga mmanyi ng'oli mulamuzi wa ggwanga lino okuva mu myaka mingi, nkuwoleza ebigambo byange n'omwoyo omugumu; 44ACT024.011 Because that thou mayest understand, that there are yet but twelve days since I went up to Jerusalem for to worship. %%% kubanga oyinza okutegeera ng'ennaku tezinnayita kkumi na bbiri! kasookedde nninnya e Yerusaalerni okusinza: 44ACT024.012 And they neither found me in the temple disputing with any man, neither raising up the people, neither in the synagogues, nor in the city: %%% so tebansanganga mu yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesa ekibiina newakubadde mu kkuŋŋaaniro newakubadde mu kibuga. 44ACT024.013 Neither can they prove the things whereof they now accuse me. %%% So tebayinza kukakasa w'oli ebigambo bye banvunaana kaakano. 44ACT024.014 But this I confess unto thee, that after the way which they call heresy, so worship I the God of my fathers, believing all things which are written in the law and in the prophets: %%% Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi; 44ACT024.015 And have hope toward God, which they themselves also allow, that there shall be a resurrection of the dead, both of the just and unjust. %%% nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu. 44ACT024.016 And herein do I exercise myself, to have always a conscience void of offence toward God, and toward men. %%% Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna. 44ACT024.017 Now after many years I came to bring alms to my nation, and offerings. %%% Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo: 44ACT024.018 Whereupon certain Jews from Asia found me purified in the temple, neither with multitude, nor with tumult. %%% bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano; 44ACT024.019 Who ought to have been here before thee, and object, if they had ought against me. %%% abagwanidde okubeera w'oli n'okunnumiriza oba nga balina ekigambo ku nze. 44ACT024.020 Or else let these same here say, if they have found any evil doing in me, while I stood before the council, %%% Oba bano bayogere bennyini ekibi kye baalaba bwe nnayimirira mu lukiiko 44ACT024.021 Except it be for this one voice, that I cried standing among them, Touching the resurrection of the dead I am called in question by you this day. %%% wabula olw'eddoboozi lino erimu lye nnayogerera waggulu, nga nnyimiridde mu bo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno. 44ACT024.022 And when Felix heard these things, having more perfect knowledge of that way, he deferred them, and said, When Lysias the chief captain shall come down, I will know the uttermost of your matter. %%% Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti bw'aliserengeta Lusiya omwami omukulu, ndisala omusango gw'ebigambo byammwe. 44ACT024.023 And he commanded a centurion to keep Paul, and to let him have liberty, and that he should forbid none of his acquaintance to minister or come unto him. %%% N'alagira omwami okumukuuma n'okumuwa ebbanga; n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye, okumuweereza. 44ACT024.024 And after certain days, when Felix came with his wife Drusilla, which was a Jewess, he sent for Paul, and heard him concerning the faith in Christ. %%% Naye ennaku bwe zaayitawo Ferikisi n'ajja ne mukazi we Dulusira, Omuyudaaya, n'ayita Pawulo n'amuwuliriza ku bigambo eby'okukkiriza Kristo Yesu. 44ACT024.025 And as he reasoned of righteousness, temperance, and judgment to come, Felix trembled, and answered, Go thy way for this time; when I have a convenient season, I will call for thee. %%% Bwe yali ng'ateeza eby’obubutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n’ebbanga, ndikuyita. 44ACT024.026 He hoped also that money should have been given him of Paul, that he might loose him: wherefore he sent for him the oftener, and communed with him. %%% Era n'asuubira Pawulo okumuwa ebintu: kyeyava yeeyongeranga okumutumiranga okunyumyanga naye. 44ACT024.027 But after two years Porcius Festus came into Felix' room: and Felix, willing to shew the Jews a pleasure, left Paul bound. %%% Naye bwe waayitiwo emkyaka ebiri, obwa Ferikisi ne buweebwa Polukiyo Fesuto; Ferikisi bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n’aleka Pawulo nga musibe. 44ACT025.001 Now when Festus was come into the province, after three days he ascended from Caesarea to Jerusalem. %%% Awo Fesuto bwe yatuuka mu ssaza, bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ava mu Kayisaliya n'alinnya e Yerusaalemi. 44ACT025.002 Then the high priest and the chief of the Jews informed him against Paul, and besought him, %%% Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamubuulira Pawulo bye yaloopebwa; ne bamwegayirira, 44ACT025.003 And desired favour against him, that he would send for him to Jerusalem, laying wait in the way to kill him. %%% nga baagala abakole obulungi ku ye, amutumire okujja e Yerusaalemi; bamuteegere mu kkubo okumutta. 44ACT025.004 But Festus answered, that Paul should be kept at Caesarea, and that he himself would depart shortly thither. %%% Naye Fesuto n'addamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, naye ye yennyini yali ng'anaatera okuvaayo okugenda. 44ACT025.005 Let them therefore, said he, which among you are able, go down with me, and accuse this man, if there be any wickedness in him. %%% N'agamba nti Kale abakulu mu mmwe bagende nange, bamuvunaane oyo oba ng'aliko ekibi kyonna kyonna. 44ACT025.006 And when he had tarried among them more than ten days, he went down unto Caesarea; and the next day sitting on the judgment seat commanded Paul to be brought. %%% Bwe yamalayo ewaabwe ennaku ezitaasingawo munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo. 44ACT025.007 And when he was come, the Jews which came down from Jerusalem stood round about, and laid many and grievous complaints against Paul, which they could not prove. %%% Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bayimirira okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye bataayinza kulumiriza; 44ACT025.008 While he answered for himself, Neither against the law of the Jews, neither against the temple, nor yet against Caesar, have I offended any thing at all. %%% Pawulo n'awoza nti Siyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya newakubadde ku yeekaalu newakubadde eri Kayisaali. 44ACT025.009 But Festus, willing to do the Jews a pleasure, answered Paul, and said, Wilt thou go up to Jerusalem, and there be judged of these things before me? %%% Naye Fesuto, bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n'addamu eri Pawulo n'agamba nti Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange? 44ACT025.010 Then said Paul, I stand at Caesar's judgment seat, where I ought to be judged: to the Jews have I done no wrong, as thou very well knowest. %%% Naye Pawulo n'agamba nti Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi. 44ACT025.011 For if I be an offender, or have committed any thing worthy of death, I refuse not to die: but if there be none of these things whereof these accuse me, no man may deliver me unto them. I appeal unto Caesar. %%% Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulira Kayisaali. 44ACT025.012 Then Festus, when he had conferred with the council, answered, Hast thou appealed unto Caesar? unto Caesar shalt thou go. %%% Fesuto bwe yamala okuteesa nabo mu lukiiko n'alyoka addamu nti Ojulidde Kayisaali: oligenda eri Kayisaali. 44ACT025.013 And after certain days king Agrippa and Bernice came unto Caesarea to salute Festus. %%% Awo bwe waayitawo ennaku, Agulipa kabaka ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya, ne balamusa Fesuto. 44ACT025.014 And when they had been there many days, Festus declared Paul's cause unto the king, saying, There is a certain man left in bonds by Felix: %%% Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe: 44ACT025.015 About whom, when I was at Jerusalem, the chief priests and the elders of the Jews informed me, desiring to have judgment against him. %%% bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango. 44ACT025.016 To whom I answered, It is not the manner of the Romans to deliver any man to die, before that he which is accused have the accusers face to face, and have licence to answer for himself concerning the crime laid against him. %%% Ne mbaddamu nti Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana. 44ACT025.017 Therefore, when they were come hither, without any delay on the morrow I sat on the judgment seat, and commanded the man to be brought forth. %%% Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo. 44ACT025.018 Against whom when the accusers stood up, they brought none accusation of such things as I supposed: %%% Bwe baayimirira abamuvunaana ne bataleeta nsonga ya bigambo bibi nga bwe nnali ndowooza; 44ACT025.019 But had certain questions against him of their own superstition, and of one Jesus, which was dead, whom Paul affirmed to be alive. %%% naye baalina ku ye ebibuuzibwa mu ddiini yaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafa, Pawulo gwe yayogerako okuba omulamu. 44ACT025.020 And because I doubted of such manner of questions, I asked him whether he would go to Jerusalem, and there be judged of these matters. %%% Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino. 44ACT025.021 But when Paul had appealed to be reserved unto the hearing of Augustus, I commanded him to be kept till I might send him to Caesar. %%% Naye Pawulo bwe yajulira okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusa lwe ndimuweereza eri Kayisaali. 44ACT025.022 Then Agrippa said unto Festus, I would also hear the man myself. To morrow, said he, thou shalt hear him. %%% Agulipa n'agamba Fesuto nti Nandyagadde nange okuwulira omuntu oyo. N'agamba nti Enkya onoomuwulira. 44ACT025.023 And on the morrow, when Agrippa was come, and Bernice, with great pomp, and was entered into the place of hearing, with the chief captains, and principal men of the city, at Festus' commandment Paul was brought forth. %%% Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa. 44ACT025.024 And Festus said, King Agrippa, and all men which are here present with us, ye see this man, about whom all the multitude of the Jews have dealt with me, both at Jerusalem, and also here, crying that he ought not to live any longer. %%% Fesuto n'agamba nti Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate. 44ACT025.025 But when I found that he had committed nothing worthy of death, and that he himself hath appealed to Augustus, I have determined to send him. %%% Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Augusito ne nsala okumuweerezaayo. 44ACT025.026 Of whom I have no certain thing to write unto my lord. Wherefore I have brought him forth before you, and specially before thee, O king Agrippa, that, after examination had, I might have somewhat to write. %%% Sirina kigambo ku ye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w'oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n'ekigambo eky'okuwandiika. 44ACT025.027 For it seemeth to me unreasonable to send a prisoner, and not withal to signify the crimes laid against him. %%% Kubanga ndaba nga kya busiru okuweereza omusibe n'obutabuulira nsonga eziri ku ye. 44ACT026.001 Then Agrippa said unto Paul, Thou art permitted to speak for thyself. Then Paul stretched forth the hand, and answered for himself: %%% Agulipa n'agamba Pawulo nti Okkirizibwa okuwoza ensonga zo. Awo Pawulo n'alyoka agolola omukono n'awoza nti 44ACT026.002 I think myself happy, king Agrippa, because I shall answer for myself this day before thee touching all the things whereof I am accused of the Jews: %%% Bye nnavunaanibwa Abayudaaya byonna, kabaka Agulipa, nneesiimye kubanga ŋŋenda okubiwoza leero w'oli; 44ACT026.003 Especially because I know thee to be expert in all customs and questions which are among the Jews: wherefore I beseech thee to hear me patiently. %%% era okusinga kubanga omanyi empisa n'ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpulira. 44ACT026.004 My manner of life from my youth, which was at the first among mine own nation at Jerusalem, know all the Jews; %%% Kale empisa zange okuva mu buto ezaasooka okubeeranga mu ggwanga lyaffe ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna bazimanyi; 44ACT026.005 Which knew me from the beginning, if they would testify, that after the most straitest sect of our religion I lived a Pharisee. %%% abantegeera okusooka edda, singa baagala okutegeeza, bwe nneegenderezanga mu kitundu ekisinga obuzibu eky'eddiini yaffe, ne mbeera Mufalisaayo. 44ACT026.006 And now I stand and am judged for the hope of the promise made of God unto our fathers: %%% Kaakano nnyimiridde okusalirwa omusango olw'essubi Katonda lye yasuubiza bajjajjaffe; 44ACT026.007 Unto which promise our twelve tribes, instantly serving God day and night, hope to come. For which hope's sake, king Agrippa, I am accused of the Jews. %%% lye basuubira okutuukako ebika byaffe ekkumi n'ebibiri, nga banyiikira okuweerezanga Katonda emisana n'ekiro: olw'essuubi eryo, kabaka, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira. 44ACT026.008 Why should it be thought a thing incredible with you, that God should raise the dead? %%% Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu? 44ACT026.009 I verily thought with myself, that I ought to do many things contrary to the name of Jesus of Nazareth. %%% Mazima nze nalowoozanga nzekka nga kiŋŋwanidde okukolanga obubi ebigambo bingi ku linnya lya Yesu Omunazaaleesi. 44ACT026.010 Which thing I also did in Jerusalem: and many of the saints did I shut up in prison, having received authority from the chief priests; and when they were put to death, I gave my voice against them. %%% N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta. 44ACT026.011 And I punished them oft in every synagogue, and compelled them to blaspheme; and being exceedingly mad against them, I persecuted them even unto strange cities. %%% Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuukai mu bibuga eby'ebweru. 44ACT026.012 Whereupon as I went to Damascus with authority and commission from the chief priests, %%% Awo bwe nnali nga ŋŋenda e Ddamasiko nga nnina obuyinza n'okulagirwa okwava eri bakabona abakulu, 44ACT026.013 At midday, O king, I saw in the way a light from heaven, above the brightness of the sun, shining round about me and them which journeyed with me. %%% mu ttuntu, kabaka, ne ndaba mu kkubo omusana ogwava mu ggulu ogusinga okwaka kw'enjuba ne gumasamasa ne gunneetooloola n'abaali batambula nange. 44ACT026.014 And when we were all fallen to the earth, I heard a voice speaking unto me, and saying in the Hebrew tongue, Saul, Saul, why persecutest thou me? it is hard for thee to kick against the pricks. %%% Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda. 44ACT026.015 And I said, Who art thou, Lord? And he said, I am Jesus whom thou persecutest. %%% Nze ne ŋŋamba nti Ggwe ani, Mukama wange? Mukama waffe n'agamba nti Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe. 44ACT026.016 But rise, and stand upon thy feet: for I have appeared unto thee for this purpose, to make thee a minister and a witness both of these things which thou hast seen, and of those things in the which I will appear unto thee; %%% Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyenvudde nkulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa w'ebyo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga, 44ACT026.017 Delivering thee from the people, and from the Gentiles, unto whom now I send thee, %%% nga nkuwonya mu bantu ne mu b'amawanga, nze gye nkutuma okuzibula amaaso gaabwe, 44ACT026.018 To open their eyes, and to turn them from darkness to light, and from the power of Satan unto God, that they may receive forgiveness of sins, and inheritance among them which are sanctified by faith that is in me. %%% bakyuke okuva mu kizikiza badde eri omusana n'okuvamu buyinza bwa Setaani badde eri Katonda, balyoke baweebwe okuggibwako ebibi n'obusika mu abo abatukuzibwa olw'okukkiriza nze. 44ACT026.019 Whereupon, O king Agrippa, I was not disobedient unto the heavenly vision: %%% Kale, kabaka Agulipa, saalema kugondera okwolesebwa okw'omu ggulu: 44ACT026.020 But shewed first unto them of Damascus, and at Jerusalem, and throughout all the coasts of Judaea, and then to the Gentiles, that they should repent and turn to God, and do works meet for repentance. %%% naye nnasooka okubuulira ab'omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolonga ebikolwa ebisaanidde okwenenya. 44ACT026.021 For these causes the Jews caught me in the temple, and went about to kill me. %%% Abayudaaya kyebaava bankwata mu yeekaalu ne bagezaako okunzita. 44ACT026.022 Having therefore obtained help of God, I continue unto this day, witnessing both to small and great, saying none other things than those which the prophets and Moses did say should come: %%% Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja; 44ACT026.023 That Christ should suffer, and that he should be the first that should rise from the dead, and should shew light unto the people, and to the Gentiles. %%% ne kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw’alisooka mu kuzuukira kw’abafu okubuulira omusana abantu n’ab’amawanga. 44ACT026.024 And as he thus spake for himself, Festus said with a loud voice, Paul, thou art beside thyself; much learning doth make thee mad. %%% Bwe yawoza bw’atyo Fesuto n'agamba n'eddoboozi ddene nti Olaluse, Pawulo: okusoma okwo okungi kukukyusa okuba omulalu. 44ACT026.025 But he said, I am not mad, most noble Festus; but speak forth the words of truth and soberness. %%% Naye Pawulo n'agamba nti Siraluse, Fesuto omulungi ennyo, naye njogera ebigambo eby'amazima eby'obuntu bulamu. 44ACT026.026 For the king knoweth of these things, before whom also I speak freely: for I am persuaded that none of these things are hidden from him; for this thing was not done in a corner. %%% Kubanga kabaka amanyi ebigambo bino, gwe njogerera mu maaso ge n'obugumu. Kubanga mmanyi ebigambo bino tebyekwese eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba. 44ACT026.027 King Agrippa, believest thou the prophets? I know that thou believest. %%% Okkiriza bannabbi, kabaka Agulipa? Mmanyi ng'okkiriza. 44ACT026.028 Then Agrippa said unto Paul, Almost thou persuadest me to be a Christian. %%% Agulipa n'agamba Pawulo nti Oyagala okunsendasenda onfuule Omukristaayo; 44ACT026.029 And Paul said, I would to God, that not only thou, but also all that hear me this day, were both almost, and altogether such as I am, except these bonds. %%% Pawulo n'agamba nti Nandisabye Katonda olw'okusendasenda okutono oba okunene si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze awatali kusibibwa kuno. 44ACT026.030 And when he had thus spoken, the king rose up, and the governor, and Bernice, and they that sat with them: %%% Kabaka n'agolokoka n'owessaza ne Berenike n'abaali batudde awamu nabo; 44ACT026.031 And when they were gone aside, they talked between themselves, saying, This man doeth nothing worthy of death or of bonds. %%% bwe baddayo eka, ne boogera bokka na bokka nga bagamba nti Omuntu ono takoze ekisaanidde okumussa oba okumusibya. 44ACT026.032 Then said Agrippa unto Festus, This man might have been set at liberty, if he had not appealed unto Caesar. %%% Agulipa n'agamba Fesuto nti Omuntu ono yandiyinzizza okuteebwa, singa teyajulira Kayisaali. 44ACT027.001 And when it was determined that we should sail into Italy, they delivered Paul and certain other prisoners unto one named Julius, a centurion of Augustus' band. %%% Awo bwe kyalagirwa ffe okuwanika amatanga okugenda Italiya, ne bawaayo Pawulo n'abasibe abalala abamu eri omwami, erinnya lye Yuliyo, ow'ekitongole kya Augusito. 44ACT027.002 And entering into a ship of Adramyttium, we launched, meaning to sail by the coasts of Asia; one Aristarchus, a Macedonian of Thessalonica, being with us. %%% Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, Alisutaluuko ow'e Makedoni ow'omu Ssessaloniika naye ng'ali naffe. 44ACT027.003 And the next day we touched at Sidon. And Julius courteously entreated Paul, and gave him liberty to go unto his friends to refresh himself. %%% Ku lunaku olw'okubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira. 44ACT027.004 And when we had launched from thence, we sailed under Cyprus, because the winds were contrary. %%% Ne tuvaayo ne tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuva mu bwengula. 44ACT027.005 And when we had sailed over the sea of Cilicia and Pamphylia, we came to Myra, a city of Lycia. %%% Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky’e Lukiya. 44ACT027.006 And there the centurion found a ship of Alexandria sailing into Italy; and he put us therein. %%% Omwami n'alabayo ekyombo eky'e Alegezanderiya nga kigenda Italiya; n'atusaabaza mu ekyo. 44ACT027.007 And when we had sailed slowly many days, and scarce were come over against Cnidus, the wind not suffering us, we sailed under Crete, over against Salmone; %%% Bwe twagenda empola ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone; 44ACT027.008 And, hardly passing it, came unto a place which is called The fair havens; nigh whereunto was the city of Lasea. %%% ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya. 44ACT027.009 Now when much time was spent, and when sailing was now dangerous, because the fast was now already past, Paul admonished them, %%% Bwe waayitawo ebiro bingi, obubi bwali bumaze okubaawo okugenda mu nnyanja kubanga ennaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula 44ACT027.010 And said unto them, Sirs, I perceive that this voyage will be with hurt and much damage, not only of the lading and ship, but also of our lives. %%% ng'abagamba nti Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe. 44ACT027.011 Nevertheless the centurion believed the master and the owner of the ship, more than those things which were spoken by Paul. %%% Naye omwami n'akkiriza omugoba ne nnannyini kyombo okusinga Pawulo by'ayogedde. 44ACT027.012 And because the haven was not commodious to winter in, the more part advised to depart thence also, if by any means they might attain to Phenice, and there to winter; which is an haven of Crete, and lieth toward the south west and north west. %%% Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abamu bangi ne bateesa okuvaayo, mpozzi balyoke batuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba. 44ACT027.013 And when the south wind blew softly, supposing that they had obtained their purpose, loosing thence, they sailed close by Crete. %%% Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essiika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete. 44ACT027.014 But not long after there arose against it a tempestuous wind, called Euroclydon. %%% Naye oluvannyuma lw'ebiro si bingi omuyaga ogulimu kibuyaga ogwavaayo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta: 44ACT027.015 And when the ship was caught, and could not bear up into the wind, we let her drive. %%% ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga. 44ACT027.016 And running under a certain island which is called Clauda, we had much work to come by the boat: %%% Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato: 44ACT027.017 Which when they had taken up, they used helps, undergirding the ship; and, fearing lest they should fall into the quicksands, strake sail, and so were driven. %%% bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga. 44ACT027.018 And we being exceedingly tossed with a tempest, the next day they lightened the ship; %%% Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olw'okubiri ne basiikulula ebintu, 44ACT027.019 And the third day we cast out with our own hands the tackling of the ship. %%% era ku lw'okusatu ne basuula n'emikono gyabwe ebitwala ekyombo. 44ACT027.020 And when neither sun nor stars in many days appeared, and no small tempest lay on us, all hope that we should be saved was then taken away. %%% Era enjuba newakubadde emmunyeenye mu nnaku nnyingi nga tebyaka, era n'omuyaga si mutono ogwatukwata, oluvannyuma essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu. 44ACT027.021 But after long abstinence Paul stood forth in the midst of them, and said, Sirs, ye should have hearkened unto me, and not have loosed from Crete, and to have gained this harm and loss. %%% Enjala bwe yali ennyingi, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti Kyabagwanira, abasajja, okumpulira obutava mu Kuleete, obutalaba kwonoonekerwa kuno n'okufiirwa. 44ACT027.022 And now I exhort you to be of good cheer: for there shall be no loss of any man's life among you, but of the ship. %%% Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo. 44ACT027.023 For there stood by me this night the angel of God, whose I am, and whom I serve, %%% Kubanga we ndi waayimiridde ekiro kino malayika wa Katonda, nze owuwe, gwe mpeereza, 44ACT027.024 Saying, Fear not, Paul; thou must be brought before Caesar: and, lo, God hath given thee all them that sail with thee. %%% ng'agamba nti Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira awali Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe. 44ACT027.025 Wherefore, sirs, be of good cheer: for I believe God, that it shall be even as it was told me. %%% Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye. 44ACT027.026 Howbeit we must be cast upon a certain island. %%% Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga. 44ACT027.027 But when the fourteenth night was come, as we were driven up and down in Adria, about midnight the shipmen deemed that they drew near to some country; %%% Naye ekiro eky'ekkumi n'ebina bwe kyatuuka, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti banaatera okusemberera olukalu; 44ACT027.028 And sounded, and found it twenty fathoms: and when they had gone a little further, they sounded again, and found it fifteen fathoms. %%% ne bagera ne balaba ebifuba amakumi abiri: bwe twagendako katono, ne bagera nate, ne balaba ebifuba kkumi na bitaano. 44ACT027.029 Then fearing lest we should have fallen upon rocks, they cast four anchors out of the stern, and wished for the day. %%% Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasiika ana ku kiwenda ne balindirira bukye. 44ACT027.030 And as the shipmen were about to flee out of the ship, when they had let down the boat into the sea, under colour as though they would have cast anchors out of the foreship, %%% Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa eryato mu nnyanja ng'abagenda okusuula amasiika ku nsanda, 44ACT027.031 Paul said to the centurion and to the soldiers, Except these abide in the ship, ye cannot be saved. %%% Pawulo n'agamba omwami n'abaserikale nti Bwe bataabeere bano mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka. 44ACT027.032 Then the soldiers cut off the ropes of the boat, and let her fall off. %%% Basserikale ne balyoka basala emigwa egy'eryato ne balireka okugenda. 44ACT027.033 And while the day was coming on, Paul besought them all to take meat, saying, This day is the fourteenth day that ye have tarried and continued fasting, having taken nothing. %%% Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti Leero lunaku lwa kkumi na nnya ze mwakalindiririra nga musiiba ne mutalya kantu. 44ACT027.034 Wherefore I pray you to take some meat: for this is for your health: for there shall not an hair fall from the head of any of you. %%% Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu. 44ACT027.035 And when he had thus spoken, he took bread, and gave thanks to God in presence of them all: and when he had broken it, he began to eat. %%% Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atanula okulyako. 44ACT027.036 Then were they all of good cheer, and they also took some meat. %%% Bonna ne baguma emyoyo, nabo ne balyako. 44ACT027.037 And we were in all in the ship two hundred threescore and sixteen souls. %%% Ne tuba fenna abaali mu kyombo emyoyo bikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 44ACT027.038 And when they had eaten enough, they lightened the ship, and cast out the wheat into the sea. %%% Bwe baamala okukkuta emmere, ekyombo ne bakiwewula nga basuula eŋŋaano mu nnyanja. 44ACT027.039 And when it was day, they knew not the land: but they discovered a certain creek with a shore, into the which they were minded, if it were possible, to thrust in the ship. %%% Bwe bwakya enkya, nga tebamanyi gye bali: naye ne balaba ekikono ekiriko omusenyu; ne bateesa, oba nga kiyinzika, okuseeza omwo ekyombo. 44ACT027.040 And when they had taken up the anchors, they committed themselves unto the sea, and loosed the rudder bands, and hoised up the mainsail to the wind, and made toward shore. %%% Ne bakutula amasiika, ne bagaleka mu nnyanja, mu kiseera ekyo bwe baasumulula emigwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga eri mu maaso eri empewo ne boolekera ku ttale. 44ACT027.041 And falling into a place where two seas met, they ran the ship aground; and the forepart stuck fast, and remained unmoveable, but the hinder part was broken with the violence of the waves. %%% Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibikuka n'amaanyi g'amayengo. 44ACT027.042 And the soldiers' counsel was to kill the prisoners, lest any of them should swim out, and escape. %%% Basserikale ne bateesa abasibe battibwe baleme okuwugirira okudduka. 44ACT027.043 But the centurion, willing to save Paul, kept them from their purpose; and commanded that they which could swim should cast themselves first into the sea, and get to land: %%% Naye omwami bwe yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye bateesezza; n'alagira abaayinza okuwuga okwesuulamu basooke okutuuka ku ttale; 44ACT027.044 And the rest, some on boards, and some on broken pieces of the ship. And so it came to pass, that they escaped all safe to land. %%% n'abalala abaasigalawo, abamu ku mpero, n'abamu ku bintu by'ekyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku ttale emirembe. 44ACT028.001 And when they were escaped, then they knew that the island was called Melita. %%% Bwe twamala okulokoka ne tulyoka tutegeera ng'ekizinga kiyitibwa Merita. 44ACT028.002 And the barbarous people shewed us no little kindness: for they kindled a fire, and received us every one, because of the present rain, and because of the cold. %%% Bannaggwanga ne batukola obulungi obutali bwa bulijjo: kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna olw'enkuba eyatonnya n'olw'empewo. 44ACT028.003 And when Paul had gathered a bundle of sticks, and laid them on the fire, there came a viper out of the heat, and fastened on his hand. %%% Naye Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku, n'agussa mu muliro, embalasaasa n'evaamu olw'ebbugumu n'emwerippa ku mukono. 44ACT028.004 And when the barbarians saw the venomous beast hang on his hand, they said among themselves, No doubt this man is a murderer, whom, though he hath escaped the sea, yet vengeance suffereth not to live. %%% Bannaggwanga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti Mazima omuntu ono mussi; newakubadde ng'alokose mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu. 44ACT028.005 And he shook off the beast into the fire, and felt no harm. %%% Naye n'akunkumulira mu muliro ekyekulula n'atabaako kabi. 44ACT028.006 Howbeit they looked when he should have swollen, or fallen down dead suddenly: but after they had looked a great while, and saw no harm come to him, they changed their minds, and said that he was a god. %%% Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti katonda. 44ACT028.007 In the same quarters were possessions of the chief man of the island, whose name was Publius; who received us, and lodged us three days courteously. %%% Waaliwo kumpi n'ekifo ekyo ensuku z'omuntu omukulu w'ekizinga, erinnya ne Pubuliyo: oyo n'atusembeza n'atujjanjabira n'ekisa ennaku ssatu. 44ACT028.008 And it came to pass, that the father of Publius lay sick of a fever and of a bloody flux: to whom Paul entered in, and prayed, and laid his hands on him, and healed him. %%% Awo kitaawe wa Pubuliyo yali agalamidde, ng'alwadde omusujja n'ekiddukano ky'omusaayi: Pawulo n'ayingira mw'ali, n'asaba n'amussaako emikono n'amuwonya. 44ACT028.009 So when this was done, others also, which had diseases in the island, came, and were healed: %%% Ekyo bwe kyakolebwa, abalala nabo abaali ku kizinga abaalina endwadde ne bajja ne bawonyezebwa: 44ACT028.010 Who also honoured us with many honours; and when we departed, they laded us with such things as were necessary. %%% era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku lyato ebintu bye twetaaga. 44ACT028.011 And after three months we departed in a ship of Alexandria, which had wintered in the isle, whose sign was Castor and Pollux. %%% Emyezi esatu bwe gyayitawo, ne tuviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyali ku kizinga mu biro eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo. 44ACT028.012 And landing at Syracuse, we tarried there three days. %%% Ne tugoba mu Sulakusa ne tumalayo ennaku ssatu: 44ACT028.013 And from thence we fetched a compass, and came to Rhegium: and after one day the south wind blew, and we came the next day to Puteoli: %%% ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe waayitawo olunaku lumu, empewo ez'omuggundu ne zikunta, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Putiyooli; 44ACT028.014 Where we found brethren, and were desired to tarry with them seven days: and so we went toward Rome. %%% gye twasanga ab'oluganda ne batuyita okumala wamu nabo ennaku musanvu: awo bwe tutyo ne tutuuka e Ruumi 44ACT028.015 And from thence, when the brethren heard of us, they came to meet us as far as Appii forum, and The three taverns: whom when Paul saw, he thanked God, and took courage. %%% Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo. 44ACT028.016 And when we came to Rome, the centurion delivered the prisoners to the captain of the guard: but Paul was suffered to dwell by himself with a soldier that kept him. %%% Bwe twayingira mu Ruumi, Pawulo n'alagirwa okubeera yekka wamu ne sserikale eyali amukuuma. 44ACT028.017 And it came to pass, that after three days Paul called the chief of the Jews together: and when they were come together, he said unto them, Men and brethren, though I have committed nothing against the people, or customs of our fathers, yet was I delivered prisoner from Jerusalem into the hands of the Romans. %%% Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti Nze, abasajja ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi: 44ACT028.018 Who, when they had examined me, would have let me go, because there was no cause of death in me. %%% abo bwe baamala okunkemereza ne baagala okunsumulula, kubanga tewaali nsonga gye ndi ya kunzisa. 44ACT028.019 But when the Jews spake against it, I was constrained to appeal unto Caesar; not that I had ought to accuse my nation of. %%% Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe. 44ACT028.020 For this cause therefore have I called for you, to see you, and to speak with you: because that for the hope of Israel I am bound with this chain. %%% Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno. 44ACT028.021 And they said unto him, We neither received letters out of Judaea concerning thee, neither any of the brethren that came shewed or spake any harm of thee. %%% Bo ne bamugamba nti Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe. 44ACT028.022 But we desire to hear of thee what thou thinkest: for as concerning this sect, we know that every where it is spoken against. %%% Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga ebigambo by'enzikiriza eno, tumanyi nti kiwerebwa wonna wonna. 44ACT028.023 And when they had appointed him a day, there came many to him into his lodging; to whom he expounded and testified the kingdom of God, persuading them concerning Jesus, both out of the law of Moses, and out of the prophets, from morning till evening. %%% Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okusooka enkya okutuusa akawungeezi. 44ACT028.024 And some believed the things which were spoken, and some believed not. %%% Abamu ne bakkiriza bye yayogera, abamu ne batakkiriza. 44ACT028.025 And when they agreed not among themselves, they departed, after that Paul had spoken one word, Well spake the Holy Ghost by Esaias the prophet unto our fathers, %%% Bwe bataatabagana bokka na bokka, ne bagenda, Pawulo bwe yamala okwogera ekigambo kimu, nti Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu nnabbi Isaaya 44ACT028.026 Saying, Go unto this people, and say, Hearing ye shall hear, and shall not understand; and seeing ye shall see, and not perceive: %%% ng'agamba nti Genda eri abantu bano, oyogere nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okulaba muliraba, ne muteetegeereza: 44ACT028.027 For the heart of this people is waxed gross, and their ears are dull of hearing, and their eyes have they closed; lest they should see with their eyes, and hear with their ears, and understand with their heart, and should be converted, and I should heal them. %%% Kubanga omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe bawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, N'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima gwabwe, N'okukyuka, Nze okubawonya. 44ACT028.028 Be it known therefore unto you, that the salvation of God is sent unto the Gentiles, and that they will hear it. %%% Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezebbwa ab'amawanga : nabo balibuwulira. 44ACT028.029 And when he had said these words, the Jews departed, and had great reasoning among themselves. %%% Bwe yayogera ebigambo ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka. 44ACT028.030 And Paul dwelt two whole years in his own hired house, and received all that came in unto him, %%% N'amalayo emyaka ebiri miramba ewuwe yekka mu nju gye yapangisa, n'asembezanga bonna abajjanga gy'ali, 44ACT028.031 Preaching the kingdom of God, and teaching those things which concern the Lord Jesus Christ, with all confidence, no man forbidding him. %%% ng'abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng'ayigirizanga n'obugumu bwonna ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, n'ataziyizibwanga. 45ROM001.001 Paul, a servant of Jesus Christ, called to be an apostle, separated unto the gospel of God, %%% Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, eyayawulirwa enjiri ya Katonda, 45ROM001.002 (Which he had promised afore by his prophets in the holy scriptures,) %%% gye yasuubiriza edda mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, 45ROM001.003 Concerning his Son Jesus Christ our Lord, which was made of the seed of David according to the flesh; %%% ebigambo ebyogera ku Mwana we, eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri, 45ROM001.004 And declared to be the Son of God with power, according to the spirit of holiness, by the resurrection from the dead: %%% eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waffe, 45ROM001.005 By whom we have received grace and apostleship, for obedience to the faith among all nations, for his name: %%% eyatuweesa ekisa n'obutume olw'okuwulira okuva mu kukkiriza mu mawanga gonna, olw'erinnya lye; 45ROM001.006 Among whom are ye also the called of Jesus Christ: %%% era nammwe muli mu bo, abayitibwa okuba aba Yesu Kristo: 45ROM001.007 To all that be in Rome, beloved of God, called to be saints: Grace to you and peace from God our Father, and the Lord Jesus Christ. %%% eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu: ekisa kibe nammwe n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 45ROM001.008 First, I thank my God through Jesus Christ for you all, that your faith is spoken of throughout the whole world. %%% Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kubuulirwa mu nsi zonna. 45ROM001.009 For God is my witness, whom I serve with my spirit in the gospel of his Son, that without ceasing I make mention of you always in my prayers; %%% Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, gwe mpeerereza mu mwoyo gwange mu njiri y'Omwana we, bwe njogera ku mmwe obutamala, 45ROM001.010 Making request, if by any means now at length I might have a prosperous journey by the will of God to come unto you. %%% nga nneegayirira bulijjo mu kusaba kwange ndyoke ntambuzibwe bulungi ne kaakano, Katonda bw’ayagala, okujja gye muli. 45ROM001.011 For I long to see you, that I may impart unto you some spiritual gift, to the end ye may be established; %%% Kubanga mbalumirwa okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky'omwoyo, mulyoke munywezebwe: 45ROM001.012 That is, that I may be comforted together with you by the mutual faith both of you and me. %%% kwe kusanyukagana awamu nammwe olw'okukkiriza kwammwe n'okwange. 45ROM001.013 Now I would not have you ignorant, brethren, that oftentimes I purposed to come unto you, (but was let hitherto,) that I might have some fruit among you also, even as among other Gentiles. %%% Era, ab'oluganda, saagala muleme kumanya ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli (ne nziyizibwanga okutuusa kaakano), era ndyoke mbeereko n'ebibala mu mmwe, era nga mu mawanga amalala. 45ROM001.014 I am debtor both to the Greeks, and to the Barbarians; both to the wise, and to the unwise. %%% Abayonaani era ne bannaggwanga, ab'amagezi era n'abasirusiru, bammanja. 45ROM001.015 So, as much as in me is, I am ready to preach the gospel to you that are at Rome also. %%% Era kyenva njagala okubabuulira enjiri nammwe abali mu Ruumi nga bwe nnyinza. 45ROM001.016 For I am not ashamed of the gospel of Christ: for it is the power of God unto salvation to every one that believeth; to the Jew first, and also to the Greek. %%% Kubanga enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda olw’okulokola eri buli akkiriza okusookera Muyudaaya era n'eri Omuyonaani. 45ROM001.017 For therein is the righteousness of God revealed from faith to faith: as it is written, The just shall live by faith. %%% Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuusa mu kukkiriza: nga bwe kyawandiikibwa nti Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza. 45ROM001.018 For the wrath of God is revealed from heaven against all ungodliness and unrighteousness of men, who hold the truth in unrighteousness; %%% Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n'obutaba na butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu; 45ROM001.019 Because that which may be known of God is manifest in them; for God hath shewed it unto them. %%% kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa. 45ROM001.020 For the invisible things of him from the creation of the world are clearly seen, being understood by the things that are made, even his eternal power and Godhead; so that they are without excuse: %%% Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza: 45ROM001.021 Because that, when they knew God, they glorified him not as God, neither were thankful; but became vain in their imaginations, and their foolish heart was darkened. %%% kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa. 45ROM001.022 Professing themselves to be wise, they became fools, %%% Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala, 45ROM001.023 And changed the glory of the uncorruptible God into an image made like to corruptible man, and to birds, and fourfooted beasts, and creeping things. %%% ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebibuuka n'eky'ebirina amagulu ana n'eky'ebyewalula. 45ROM001.024 Wherefore God also gave them up to uncleanness through the lusts of their own hearts, to dishonour their own bodies between themselves: %%% Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka: 45ROM001.025 Who changed the truth of God into a lie, and worshipped and served the creature more than the Creator, who is blessed for ever. Amen. %%% kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina. 45ROM001.026 For this cause God gave them up unto vile affections: for even their women did change the natural use into that which is against nature: %%% Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa: 45ROM001.027 And likewise also the men, leaving the natural use of the woman, burned in their lust one toward another; men with men working that which is unseemly, and receiving in themselves that recompence of their error which was meet. %%% era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe. 45ROM001.028 And even as they did not like to retain God in their knowledge, God gave them over to a reprobate mind, to do those things which are not convenient; %%% Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana; 45ROM001.029 Being filled with all unrighteousness, fornication, wickedness, covetousness, maliciousness; full of envy, murder, debate, deceit, malignity; whisperers, %%% nga bajjudde obutaba na butuukirivu bwonna, obubi, okwegomba, ettima; nga bajjudde obuggya, obussi, okuyomba, obukuusa, enge; abageya, 45ROM001.030 Backbiters, haters of God, despiteful, proud, boasters, inventors of evil things, disobedient to parents, %%% abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyejo, ab'amalala, abeenyumiriza, abayiiya ebigambo ebibi, abatawulira bazadde baabwe, 45ROM001.031 Without understanding, covenantbreakers, without natural affection, implacable, unmerciful: %%% abatalina magezi, abaleka endagaano, abataagalana, abatalina kusaasira: 45ROM001.032 Who knowing the judgment of God, that they which commit such things are worthy of death, not only do the same, but have pleasure in them that do them. %%% abamanya omusango gwa Katonda, nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola. 45ROM002.001 Therefore thou art inexcusable, O man, whosoever thou art that judgest: for wherein thou judgest another, thou condemnest thyself; for thou that judgest doest the same things. %%% Kyova olema okuba n'eky'okuwoza, ggwe buli muntu anenya: kubanga ky'onenya munno, weenenyeza ddala wekka; kubanga ggwe anenya okola ebyo. 45ROM002.002 But we are sure that the judgment of God is according to truth against them which commit such things. %%% Era tumanyi ng'okunenya kwa Katonda nga kwa mazima ku abo abakola bwe batyo. 45ROM002.003 And thinkest thou this, O man, that judgest them which do such things, and doest the same, that thou shalt escape the judgment of God? %%% Ggwe omuntu, anenya abakola bwe batyo naawe n'okola ebyo, olowooza ng'olirokoka mu kunenya kwa Katonda? 45ROM002.004 Or despisest thou the riches of his goodness and forbearance and longsuffering; not knowing that the goodness of God leadeth thee to repentance? %%% Oba onyoomye obugagga bw'obulungi bwe n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, nga tomanyi ng'obulungi bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya? 45ROM002.005 But after thy hardness and impenitent heart treasurest up unto thyself wrath against the day of wrath and revelation of the righteous judgment of God; %%% Naye nga bw'olina obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu omusango ogw'ensonga gwa Katonda kwe gulibikkukira; 45ROM002.006 Who will render to every man according to his deeds: %%% alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali: 45ROM002.007 To them who by patient continuance in well doing seek for glory and honour and immortality, eternal life: %%% abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi alibasasula obulamu obutaggwaawo: 45ROM002.008 But unto them that are contentious, and do not obey the truth, but obey unrighteousness, indignation and wrath, %%% naye ku abo abayomba n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibeera obusungu n'obukambwe, 45ROM002.009 Tribulation and anguish, upon every soul of man that doeth evil, of the Jew first, and also of the Gentile; %%% okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa ku buli bulamu bw'omuntu akola obubi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani: 45ROM002.010 But glory, honour, and peace, to every man that worketh good, to the Jew first, and also to the Gentile: %%% naye ekitiibwa n'ettendo n'emirembe ku buli akola obulungi, okusookera ki Muyudaaya era ne ku Muyonaani: 45ROM002.011 For there is no respect of persons with God. %%% kubanga Katonda tasosola mu bantu. 45ROM002.012 For as many as have sinned without law shall also perish without law: and as many as have sinned in the law shall be judged by the law; %%% Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balibula awatali mateeka: era bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango n'amateeka; 45ROM002.013 (For not the hearers of the law are just before God, but the doers of the law shall be justified. %%% kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, naye abakola eby'ama teeka be baliweebwa obutuukirivu 45ROM002.014 For when the Gentiles, which have not the law, do by nature the things contained in the law, these, having not the law, are a law unto themselves: %%% kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby'amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka: 45ROM002.015 Which shew the work of the law written in their hearts, their conscience also bearing witness, and their thoughts the mean while accusing or else excusing one another;) %%% kubanga balaga omulimu gw'amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe nga gutegeeza wamu, n’ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka; 45ROM002.016 In the day when God shall judge the secrets of men by Jesus Christ according to my gospel. %%% ku lunaku Katonda kw'alisalira omusango gw'ebyama by'abantu ng'enjiri yange bw'eri, ku bwa Yesu Kristo. 45ROM002.017 Behold, thou art called a Jew, and restest in the law, and makest thy boast of God, %%% Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka ne weenyumiririza mu Katonda 45ROM002.018 And knowest his will, and approvest the things that are more excellent, being instructed out of the law; %%% n'omanya by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, ng'oyigirizibwa mu mateeka, 45ROM002.019 And art confident that thou thyself art a guide of the blind, a light of them which are in darkness, %%% ne weetegeera ggwe okubeera omusaale w'abazibe b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza, 45ROM002.020 An instructor of the foolish, a teacher of babes, which hast the form of knowledge and of the truth in the law. %%% omulagirizi w'abatalina magezi, omuyigiriza w'abaana abato ng'olina ekyokulabirako eky'amagezi n'eky'amazima mu mateeka 45ROM002.021 Thou therefore which teachest another, teachest thou not thyself? thou that preachest a man should not steal, dost thou steal? %%% kale ggwe ayigiriza omulala teweeyigiriza wekka? abuulira obutabbanga, obba? 45ROM002.022 Thou that sayest a man should not commit adultery, dost thou commit adultery? thou that abhorrest idols, dost thou commit sacrilege? %%% ayogera obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa 45ROM002.023 Thou that makest thy boast of the law, through breaking the law dishonourest thou God? %%% eyeenyumiririza mu mateeka olw'okusobya amateeka oswaza Katonda? 45ROM002.024 For the name of God is blasphemed among the Gentiles through you, as it is written. %%% Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa. 45ROM002.025 For circumcision verily profiteth, if thou keep the law: but if thou be a breaker of the law, thy circumcision is made uncircumcision. %%% Kubanga okukomolebwa kugasa bw’okwata amateeka: naye bw’oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kufuuse butakomolebwa. 45ROM002.026 Therefore if the uncircumcision keep the righteousness of the law, shall not his uncircumcision be counted for circumcision? %%% Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa? 45ROM002.027 And shall not uncircumcision which is by nature, if it fulfil the law, judge thee, who by the letter and circumcision dost transgress the law? %%% era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, alikusalira musango ggwe, omusobya w'amateeka, ng'olina ennukuta n'okukomolebwa? 45ROM002.028 For he is not a Jew, which is one outwardly; neither is that circumcision, which is outward in the flesh: %%% Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa: 45ROM002.029 But he is a Jew, which is one inwardly; and circumcision is that of the heart, in the spirit, and not in the letter; whose praise is not of men, but of God. %%% naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n’okukomolebwa kwe kw'omutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda. 45ROM003.001 What advantage then hath the Jew? or what profit is there of circumcision? %%% Kale Omuyudaaya asinga atya? oba n'okukomolebwa kugasa ki? 45ROM003.002 Much every way: chiefly, because that unto them were committed the oracles of God. %%% Kugasa nnyo mu bigambo byonna: eky'olubereberye kubanga baateresebwa Katonda bye yayogera. 45ROM003.003 For what if some did not believe? shall their unbelief make the faith of God without effect? %%% Kubanga kiba ki abamu bwe bataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda? 45ROM003.004 God forbid: yea, let God be true, but every man a liar; as it is written, That thou mightest be justified in thy sayings, and mightest overcome when thou art judged. %%% Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti Obeere n'obutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango. 45ROM003.005 But if our unrighteousness commend the righteousness of God, what shall we say? Is God unrighteous who taketh vengeance? (I speak as a man) %%% Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda talina butuukirivu aleeta obusungu? (Njogera mu buntu.) 45ROM003.006 God forbid: for then how shall God judge the world? %%% Kitalo: kubanga, (bwe kiba bwe kityo), Katonda alisalira atya ensi omusango? 45ROM003.007 For if the truth of God hath more abounded through my lie unto his glory; why yet am I also judged as a sinner? %%% Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsaliza omusango nate ng'omwonoonyi 45ROM003.008 And not rather, (as we be slanderously reported, and as some affirm that we say,) Let us do evil, that good may come? whose damnation is just. %%% era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje? abo okusalirwa omusango kwa nsonga. 45ROM003.009 What then? are we better than they? No, in no wise: for we have before proved both Jews and Gentiles, that they are all under sin; %%% Kale kiki? ffe zisanze okusinga bo? Nedda n'akatono: kubanga tusoose okuwawaabira Abayudaaya era n'Abayonaani nti bonna bafugibwa kibi; 45ROM003.010 As it is written, There is none righteous, no, not one: %%% nga bwe kyawandiikibwa nti Tewali mutuukirivu n'omu; 45ROM003.011 There is none that understandeth, there is none that seeketh after God. %%% Tewali ategeera, Tewali anoonya Katonda; 45ROM003.012 They are all gone out of the way, they are together become unprofitable; there is none that doeth good, no, not one. %%% Bonna baakyama, baafuuka batasaana wamu; Tewali akola obulungi, tewali n'omu; 45ROM003.013 Their throat is an open sepulchre; with their tongues they have used deceit; the poison of asps is under their lips: %%% Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Balimba n'ennimi zaabwe; Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'emimwa gyabwe: 45ROM003.014 Whose mouth is full of cursing and bitterness: %%% Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa: 45ROM003.015 Their feet are swift to shed blood: %%% Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi; 45ROM003.016 Destruction and misery are in their ways: %%% Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe; 45ROM003.017 And the way of peace have they not known: %%% So tebamanyanga kkubo lya mirembe: 45ROM003.018 There is no fear of God before their eyes. %%% Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe. 45ROM003.019 Now we know that what things soever the law saith, it saith to them who are under the law: that every mouth may be stopped, and all the world may become guilty before God. %%% Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda: 45ROM003.020 Therefore by the deeds of the law there shall no flesh be justified in his sight: for by the law is the knowledge of sin. %%% kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge: kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi. 45ROM003.021 But now the righteousness of God without the law is manifested, being witnessed by the law and the prophets; %%% Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa; 45ROM003.022 Even the righteousness of God which is by faith of Jesus Christ unto all and upon all them that believe: for there is no difference: %%% bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo; 45ROM003.023 For all have sinned, and come short of the glory of God; %%% kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; 45ROM003.024 Being justified freely by his grace through the redemption that is in Christ Jesus: %%% naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu: 45ROM003.025 Whom God hath set forth to be a propitiation through faith in his blood, to declare his righteousness for the remission of sins that are past, through the forbearance of God; %%% Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza; 45ROM003.026 To declare, I say, at this time his righteousness: that he might be just, and the justifier of him which believeth in Jesus. %%% okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu. 45ROM003.027 Where is boasting then? It is excluded. By what law? of works? Nay: but by the law of faith. %%% Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Kwaziyizibwa. Kwaziyizibwa n'amateeka gafaanana gatya? ga bikolwa? Nedda: naye n'amateeka ga kukkiriza. 45ROM003.028 Therefore we conclude that a man is justified by faith without the deeds of the law. %%% Kyetuva tubala ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza awatali bikolwa bya mu mateeka. 45ROM003.029 Is he the God of the Jews only? is he not also of the Gentiles? Yes, of the Gentiles also: %%% Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya? era si Katonda wa ba mawanga? Weewaawo, era wa ba mawanga: 45ROM003.030 Seeing it is one God, which shall justify the circumcision by faith, and uncircumcision through faith. %%% oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza. 45ROM003.031 Do we then make void the law through faith? God forbid: yea, we establish the law. %%% Kale amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza? Kitalo: nedda, tuganyweza bunyweza. 45ROM004.001 What shall we say then that Abraham our father, as pertaining to the flesh, hath found? %%% Kale kiki kye tunaayogera Ibulayimu jjajjaffe mu mubiri kye yalaba. 45ROM004.002 For if Abraham were justified by works, he hath whereof to glory; but not before God. %%% Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda. 45ROM004.003 For what saith the scripture? Abraham believed God, and it was counted unto him for righteousness. %%% Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu. 45ROM004.004 Now to him that worketh is the reward not reckoned of grace, but of debt. %%% Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwa kisa, naye ng'ebbanja. 45ROM004.005 But to him that worketh not, but believeth on him that justifieth the ungodly, his faith is counted for righteousness. %%% Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu. 45ROM004.006 Even as David also describeth the blessedness of the man, unto whom God imputeth righteousness without works, %%% Era nga Dawudi bw'ayogera omukisa gw'omuntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti 45ROM004.007 Saying, Blessed are they whose iniquities are forgiven, and whose sins are covered. %%% Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako. 45ROM004.008 Blessed is the man to whom the Lord will not impute sin. %%% Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi. 45ROM004.009 Cometh this blessedness then upon the circumcision only, or upon the uncircumcision also? for we say that faith was reckoned to Abraham for righteousness. %%% Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu. 45ROM004.010 How was it then reckoned? when he was in circumcision, or in uncircumcision? Not in circumcision, but in uncircumcision. %%% Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa: 45ROM004.011 And he received the sign of circumcision, a seal of the righteousness of the faith which he had yet being uncircumcised: that he might be the father of all them that believe, though they be not circumcised; that righteousness might be imputed unto them also: %%% n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu; 45ROM004.012 And the father of circumcision to them who are not of the circumcision only, but who also walk in the steps of that faith of our father Abraham, which he had being yet uncircumcised. %%% era ne jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye, abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa. 45ROM004.013 For the promise, that he should be the heir of the world, was not to Abraham, or to his seed, through the law, but through the righteousness of faith. %%% Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu abw'okukkiriza. 45ROM004.014 For if they which are of the law be heirs, faith is made void, and the promise made of none effect: %%% Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo: 45ROM004.015 Because the law worketh wrath: for where no law is, there is no transgression. %%% kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona. 45ROM004.016 Therefore it is of faith, that it might be by grace; to the end the promise might be sure to all the seed; not to that only which is of the law, but to that also which is of the faith of Abraham; who is the father of us all, %%% Kyekuva kuva mu kukkiriza, kulyoke kubeerenga kwa kisa, okusuubiza kulyoke kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna 45ROM004.017 (As it is written, I have made thee a father of many nations,) before him whom he believed, even God, who quickeneth the dead, and calleth those things which be not as though they were. %%% (nga bwe kyawandiikibwa nti Nkufudde jjajja w'amawanga amangi) mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo. 45ROM004.018 Who against hope believed in hope, that he might become the father of many nations, according to that which was spoken, So shall thy seed be. %%% Eyakkiriza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti Ezzadde lyo liriba bwe lityo. 45ROM004.019 And being not weak in faith, he considered not his own body now dead, when he was about an hundred years old, neither yet the deadness of Sarah's womb: %%% N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe ye nga gufudde (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'olubuto lwa Saala nga lufudde: 45ROM004.020 He staggered not at the promise of God through unbelief; but was strong in faith, giving glory to God; %%% naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda, 45ROM004.021 And being fully persuaded that, what he had promised, he was able also to perform. %%% era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola. 45ROM004.022 And therefore it was imputed to him for righteousness. %%% Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu. 45ROM004.023 Now it was not written for his sake alone, that it was imputed to him; %%% Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti kwamubalirwa; 45ROM004.024 But for us also, to whom it shall be imputed, if we believe on him that raised up Jesus our Lord from the dead; %%% naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu, 45ROM004.025 Who was delivered for our offences, and was raised again for our justification. %%% eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu. 45ROM005.001 Therefore being justified by faith, we have peace with God through our Lord Jesus Christ: %%% Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, 45ROM005.002 By whom also we have access by faith into this grace wherein we stand, and rejoice in hope of the glory of God. %%% era eyatuweesa olw'okukkiriza okutuuka mu kisa kino kye tuyimiriddemu; era twenyumirizenga olw'okusuubira ekitiibwa kya Katonda. 45ROM005.003 And not only so, but we glory in tribulations also: knowing that tribulation worketh patience; %%% So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona kuleeta okugumiikiriza; 45ROM005.004 And patience, experience; and experience, hope: %%% nate okugumiikiriza kuleeta okukemebwa nate okukemebwa kuleeta okusuubira: 45ROM005.005 And hope maketh not ashamed; because the love of God is shed abroad in our hearts by the Holy Ghost which is given unto us. %%% nate okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw'Omwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa. 45ROM005.006 For when we were yet without strength, in due time Christ died for the ungodly. %%% Kubanga bwe twali nga tukyali banafu, mu ntuuko ze Kristo yafiirira abatatya Katonda. 45ROM005.007 For scarcely for a righteous man will one die: yet peradventure for a good man some would even dare to die. %%% Kubanga kizibu omuntu okufiirira omutuukirivu; kubanga omulungi mpozzi omuntu aguma n'okumufiirira. 45ROM005.008 But God commendeth his love toward us, in that, while we were yet sinners, Christ died for us. %%% Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira. 45ROM005.009 Much more then, being now justified by his blood, we shall be saved from wrath through him. %%% Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe. 45ROM005.010 For if, when we were enemies, we were reconciled to God by the death of his Son, much more, being reconciled, we shall be saved by his life. %%% Kuba obanga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, okusinga ennyo bwe twatabaganyizibwa tulirokoka olw'obulamu bwe; 45ROM005.011 And not only so, but we also joy in God through our Lord Jesus Christ, by whom we have now received the atonement. %%% so si ekyo kyokka, era naye nga twenyumiririza mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana. 45ROM005.012 Wherefore, as by one man sin entered into the world, and death by sin; and so death passed upon all men, for that all have sinned: %%% Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona: 45ROM005.013 (For until the law sin was in the world: but sin is not imputed when there is no law. %%% kubanga okutuusa ku mateeka ekibi kyali mu nsi: naye ekibi tekibalibwa, awataba mateeka. 45ROM005.014 Nevertheless death reigned from Adam to Moses, even over them that had not sinned after the similitude of Adam's transgression, who is the figure of him that was to come. %%% Naye okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja. 45ROM005.015 But not as the offence, so also is the free gift. For if through the offence of one many be dead, much more the grace of God, and the gift by grace, which is by one man, Jesus Christ, hath abounded unto many. %%% Naye ng'okwonoona kuli bwe kwali, era n'ekirabo tekyali bwe kityo. Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, okusinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo olw'ekisa ky'omuntu oli omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna abangi. 45ROM005.016 And not as it was by one that sinned, so is the gift: for the judgment was by one to condemnation, but the free gift is of many offences unto justification. %%% Era nga bwe kwajja ku bw'omu eyayonoona, ekirabo tekyali bwe kityo: kubanga omusango gwava ku omu okusinga, naye ekirabo ne kiva mu byonoono ebingi okuweesa obutuukirivu. 45ROM005.017 For if by one man's offence death reigned by one; much more they which receive abundance of grace and of the gift of righteousness shall reign in life by one, Jesus Christ.) %%% Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu okufa kwafuga ku bw'omu, okusinga ennyo abo abaweebwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu balifugira mu bulamu ku bw'oyo omu Yesu Kristo. 45ROM005.018 Therefore as by the offence of one judgment came upon all men to condemnation; even so by the righteousness of one the free gift came upon all men unto justification of life. %%% Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu. 45ROM005.019 For as by one man's disobedience many were made sinners, so by the obedience of one shall many be made righteous. %%% Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafut ka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu. 45ROM005.020 Moreover the law entered, that the offence might abound. But where sin abounded, grace did much more abound: %%% Era n'amateeka ne gayingira, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira ekisa ne kisinga okusukkirira 45ROM005.021 That as sin hath reigned unto death, even so might grace reign through righteousness unto eternal life by Jesus Christ our Lord. %%% ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa era n'ekisa bwe kityo kiryoke kifuge olw'obutuukirivu okuweesa obulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. 45ROM006.001 What shall we say then? Shall we continue in sin, that grace may abound? %%% Kale tunaayogeza tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? 45ROM006.002 God forbid. How shall we, that are dead to sin, live any longer therein? %%% Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate? 45ROM006.003 Know ye not, that so many of us as were baptized into Jesus Christ were baptized into his death? %%% Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe? 45ROM006.004 Therefore we are buried with him by baptism into death: that like as Christ was raised up from the dead by the glory of the Father, even so we also should walk in newness of life. %%% Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya. 45ROM006.005 For if we have been planted together in the likeness of his death, we shall be also in the likeness of his resurrection: %%% Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe 45ROM006.006 Knowing this, that our old man is crucified with him, that the body of sin might be destroyed, that henceforth we should not serve sin. %%% bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi; 45ROM006.007 For he that is dead is freed from sin. %%% kubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi. 45ROM006.008 Now if we be dead with Christ, we believe that we shall also live with him: %%% Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye; 45ROM006.009 Knowing that Christ being raised from the dead dieth no more; death hath no more dominion over him. %%% bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga. 45ROM006.010 For in that he died, he died unto sin once: but in that he liveth, he liveth unto God. %%% Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu: naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda. 45ROM006.011 Likewise reckon ye also yourselves to be dead indeed unto sin, but alive unto God through Jesus Christ our Lord. %%% Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. 45ROM006.012 Let not sin therefore reign in your mortal body, that ye should obey it in the lusts thereof. %%% Kale ekibi kiremenga okufuga nu mubiri gwammwe ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo: 45ROM006.013 Neither yield ye your members as instruments of unrighteousness unto sin: but yield yourselves unto God, as those that are alive from the dead, and your members as instruments of righteousness unto God. %%% so temuwangayo bitundu byanmwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda. 45ROM006.014 For sin shall not have dominion over you: for ye are not under the law, but under grace. %%% Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa. 45ROM006.015 What then? shall we sin, because we are not under the law, but under grace? God forbid. %%% Kale tukole tutya? tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge atufuga, wabula ekisa? Kitalo. 45ROM006.016 Know ye not, that to whom ye yield yourselves servants to obey, his servants ye are to whom ye obey; whether of sin unto death, or of obedience unto righteousness? %%% Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu? 45ROM006.017 But God be thanked, that ye were the servants of sin, but ye have obeyed from the heart that form of doctrine which was delivered you. %%% Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo y'okuyigirizibwa gye mwaweebwa; 45ROM006.018 Being then made free from sin, ye became the servants of righteousness. %%% kale bwe mwaweebwa eddembe kuva mu kibi, ne mufuuka abaddu b'obutuukirivu. 45ROM006.019 I speak after the manner of men because of the infirmity of your flesh: for as ye have yielded your members servants to uncleanness and to iniquity unto iniquity; even so now yield your members servants to righteousness unto holiness. %%% Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba baddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byanmwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa. 45ROM006.020 For when ye were the servants of sin, ye were free from righteousness. %%% Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu. 45ROM006.021 What fruit had ye then in those things whereof ye are now ashamed? for the end of those things is death. %%% Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? kubanga enkomerero yaabyo kufa. 45ROM006.022 But now being made free from sin, and become servants to God, ye have your fruit unto holiness, and the end everlasting life. %%% Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo. 45ROM006.023 For the wages of sin is death; but the gift of God is eternal life through Jesus Christ our Lord. %%% Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe. 45ROM007.001 Know ye not, brethren, (for I speak to them that know the law,) how that the law hath dominion over a man as long as he liveth? %%% Oba temumanyi, ab'oluganda (kubanga ŋŋamba abategeera amateeka), ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu? 45ROM007.002 For the woman which hath an husband is bound by the law to her husband so long as he liveth; but if the husband be dead, she is loosed from the law of her husband. %%% Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba. 45ROM007.003 So then if, while her husband liveth, she be married to another man, she shall be called an adulteress: but if her husband be dead, she is free from that law; so that she is no adulteress, though she be married to another man. %%% Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi: naye bba bw'afa, nga wa busa eri amateeka, obutaba mwenzi bw'aba n'omusajja omulala. 45ROM007.004 Wherefore, my brethren, ye also are become dead to the law by the body of Christ; that ye should be married to another, even to him who is raised from the dead, that we should bring forth fruit unto God. %%% Bwe kityo, baganda bange, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala. 45ROM007.005 For when we were in the flesh, the motions of sins, which were by the law, did work in our members to bring forth fruit unto death. %%% Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe okubaliranga okufa ebibala. 45ROM007.006 But now we are delivered from the law, that being dead wherein we were held; that we should serve in newness of spirit, and not in the oldness of the letter. %%% Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, ffe tubeerenga abaddu mu buggya obw'omwoyo, so si mu nnukuta ez'edda. 45ROM007.007 What shall we say then? Is the law sin? God forbid. Nay, I had not known sin, but by the law: for I had not known lust, except the law had said, Thou shalt not covet. %%% Kale tunaayogera tutya? Amateeka kye kibi? Kitalo. Naye ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka: kubanga ssaadimanye kwegomba, singa amateeka tegaayogera nti Teweegombanga: 45ROM007.008 But sin, taking occasion by the commandment, wrought in me all manner of concupiscence. For without the law sin was dead. %%% naye ekibi bwe kyalaba we kiyima, ne kikolanga mu nze olw'amateeka okwegomba kwonna: kubanga awataba mateeka ekibi nga kifudde. 45ROM007.009 For I was alive without the law once: but when the commandment came, sin revived, and I died. %%% Nange edda nnabanga mulamu awatali mateeka: naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kizuukira, nange ne nfa; 45ROM007.010 And the commandment, which was ordained to life, I found to be unto death. %%% n'ekiragiro ekyali eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kirabika gye ndi eky'okuleeta okufa: 45ROM007.011 For sin, taking occasion by the commandment, deceived me, and by it slew me. %%% kubanga ekibi, bwe kyalaba we kiyima olw'ekiragiro, ne kinnimba, ne kinzita olw'ekyo. 45ROM007.012 Wherefore the law is holy, and the commandment holy, and just, and good. %%% Bwe kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kituukirivu, kirungi. 45ROM007.013 Was then that which is good made death unto me? God forbid. But sin, that it might appear sin, working death in me by that which is good; that sin by the commandment might become exceeding sinful. %%% Kale ekirungi kyafuuka kufa gye ndi? Kitalo. Naye ekibi kirabike okuba ekibi, kubanga kye kyandeetera okufa olw'ekirungi; ekibi kiryoke kyeyongerenga okubeera ekibi olw'ekiragiro. 45ROM007.014 For we know that the law is spiritual: but I am carnal, sold under sin. %%% Kubanga tumanyi ng'amateeka ge g'omwoyo: naye nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi. 45ROM007.015 For that which I do I allow not: for what I would, that do I not; but what I hate, that do I. %%% Kubanga kye nkola, ssikimanyi; kubanga kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola. 45ROM007.016 If then I do that which I would not, I consent unto the law that it is good. %%% Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza amateeka nga malungi. 45ROM007.017 Now then it is no more I that do it, but sin that dwelleth in me. %%% Kale kaakano si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. 45ROM007.018 For I know that in me (that is, in my flesh,) dwelleth no good thing: for to will is present with me; but how to perform that which is good I find not. %%% Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi: kubanga okwagala kumbeera kumpi, naye okukola ekirungi tewali. 45ROM007.019 For the good that I would I do not: but the evil which I would not, that I do. %%% Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola: naye kye ssaagala ekibi kye nkola. 45ROM007.020 Now if I do that I would not, it is no more I that do it, but sin that dwelleth in me. %%% Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. 45ROM007.021 I find then a law, that, when I would do good, evil is present with me. %%% Bwe kityo ndaba etteeka nti nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi. 45ROM007.022 For I delight in the law of God after the inward man: %%% Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda: 45ROM007.023 But I see another law in my members, warring against the law of my mind, and bringing me into captivity to the law of sin which is in my members. %%% naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n'etteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'etteeka ly'ekibi eriri mu bitundu byange. 45ROM007.024 O wretched man that I am! who shall deliver me from the body of this death? %%% Nze nga ndi muntu munaku! ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno? 45ROM007.025 I thank God through Jesus Christ our Lord. So then with the mind I myself serve the law of God; but with the flesh the law of sin. %%% Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi. 45ROM008.001 There is therefore now no condemnation to them which are in Christ Jesus, who walk not after the flesh, but after the Spirit. %%% Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu. 45ROM008.002 For the law of the Spirit of life in Christ Jesus hath made me free from the law of sin and death. %%% Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe okunziya mu tteeka ly'ekibi n'ery'okufa. 45ROM008.003 For what the law could not do, in that it was weak through the flesh, God sending his own Son in the likeness of sinful flesh, and for sin, condemned sin in the flesh: %%% Kubanga amateeka kye gatayinza, kubanga manafu olw'omubiri, Katonda, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi era olw'ekibi, n'asalira omusango ekibi mu mubiri: 45ROM008.004 That the righteousness of the law might be fulfilled in us, who walk not after the flesh, but after the Spirit. %%% obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo. 45ROM008.005 For they that are after the flesh do mind the things of the flesh; but they that are after the Spirit the things of the Spirit. %%% Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri: naye abagoberera omwoyo, bya mwoyo. 45ROM008.006 For to be carnally minded is death; but to be spiritually minded is life and peace. %%% Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe: 45ROM008.007 Because the carnal mind is enmity against God: for it is not subject to the law of God, neither indeed can be. %%% kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegakuyinza: 45ROM008.008 So then they that are in the flesh cannot please God. %%% n'abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda. 45ROM008.009 But ye are not in the flesh, but in the Spirit, if so be that the Spirit of God dwell in you. Now if any man have not the Spirit of Christ, he is none of his. %%% Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe. 45ROM008.010 And if Christ be in you, the body is dead because of sin; but the Spirit is life because of righteousness. %%% Era oba nga Kristo ali mu mmwe, omubiri nga gufudde olw'ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw'obutuukirivu. 45ROM008.011 But if the Spirit of him that raised up Jesus from the dead dwell in you, he that raised up Christ from the dead shall also quicken your mortal bodies by his Spirit that dwelleth in you. %%% Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe. 45ROM008.012 Therefore, brethren, we are debtors, not to the flesh, to live after the flesh. %%% Kale nno, ab'oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja, okugobereranga omubiri: 45ROM008.013 For if ye live after the flesh, ye shall die: but if ye through the Spirit do mortify the deeds of the body, ye shall live. %%% kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, muliba balamu. 45ROM008.014 For as many as are led by the Spirit of God, they are the sons of God. %%% Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda. 45ROM008.015 For ye have not received the spirit of bondage again to fear; but ye have received the Spirit of adoption, whereby we cry, Abba, Father. %%% Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukaabya nti Abba, Kitaffe. 45ROM008.016 The Spirit itself beareth witness with our spirit, that we are the children of God: %%% Omwoyo yennyini wamu n'omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda: 45ROM008.017 And if children, then heirs; heirs of God, and joint-heirs with Christ; if so be that we suffer with him, that we may be also glorified together. %%% naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa. 45ROM008.018 For I reckon that the sufferings of this present time are not worthy to be compared with the glory which shall be revealed in us. %%% Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe. 45ROM008.019 For the earnest expectation of the creature waiteth for the manifestation of the sons of God. %%% Kubanga okutunuulira ennyo okw'ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda. 45ROM008.020 For the creature was made subject to vanity, not willingly, but by reason of him who hath subjected the same in hope, %%% Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira nti 45ROM008.021 Because the creature itself also shall be delivered from the bondage of corruption into the glorious liberty of the children of God. %%% era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda. 45ROM008.022 For we know that the whole creation groaneth and travaileth in pain together until now. %%% Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano. 45ROM008.023 And not only they, but ourselves also, which have the firstfruits of the Spirit, even we ourselves groan within ourselves, waiting for the adoption, to wit, the redemption of our body. %%% Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe. 45ROM008.024 For we are saved by hope: but hope that is seen is not hope: for what a man seeth, why doth he yet hope for? %%% Kubanga twalokoka lwa kusuubira: naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira: kubanga ani asuubira ky'alabako? 45ROM008.025 But if we hope for that we see not, then do we with patience wait for it. %%% Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza. 45ROM008.026 Likewise the Spirit also helpeth our infirmities: for we know not what we should pray for as we ought: but the Spirit itself maketh intercession for us with groanings which cannot be uttered. %%% Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe: kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo yennyini atuwolereza n'okusinda okutayogerekeka; 45ROM008.027 And he that searcheth the hearts knoweth what is the mind of the Spirit, because he maketh intercession for the saints according to the will of God. %%% naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala. 45ROM008.028 And we know that all things work together for good to them that love God, to them who are the called according to his purpose. %%% Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi. 45ROM008.029 For whom he did foreknow, he also did predestinate to be conformed to the image of his Son, that he might be the firstborn among many brethren. %%% Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi: 45ROM008.030 Moreover whom he did predestinate, them he also called: and whom he called, them he also justified: and whom he justified, them he also glorified. %%% era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa. 45ROM008.031 What shall we then say to these things? If God be for us, who can be against us? %%% Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani? 45ROM008.032 He that spared not his own Son, but delivered him up for us all, how shall he not with him also freely give us all things? %%% Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye? 45ROM008.033 Who shall lay any thing to the charge of God's elect? It is God that justifieth. %%% Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu: 45ROM008.034 Who is he that condemneth? It is Christ that died, yea rather, that is risen again, who is even at the right hand of God, who also maketh intercession for us. %%% ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza. 45ROM008.035 Who shall separate us from the love of Christ? shall tribulation, or distress, or persecution, or famine, or nakedness, or peril, or sword? %%% Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? 45ROM008.036 As it is written, For thy sake we are killed all the day long; we are accounted as sheep for the slaughter. %%% Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa. 45ROM008.037 Nay, in all these things we are more than conquerors through him that loved us. %%% Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala. 45ROM008.038 For I am persuaded, that neither death, nor life, nor angels, nor principalities, nor powers, nor things present, nor things to come, %%% Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, 45ROM008.039 Nor height, nor depth, nor any other creature, shall be able to separate us from the love of God, which is in Christ Jesus our Lord. %%% newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe. 45ROM009.001 I say the truth in Christ, I lie not, my conscience also bearing me witness in the Holy Ghost, %%% Njogera amazima mu Kristo sirimba, omwoyo gwange nga guntegeereza mu Mwoyo Omutuukuvu, 45ROM009.002 That I have great heaviness and continual sorrow in my heart. %%% nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutima gwange. 45ROM009.003 For I could wish that myself were accursed from Christ for my brethren, my kinsmen according to the flesh: %%% Kubanga nandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri: 45ROM009.004 Who are Israelites; to whom pertaineth the adoption, and the glory, and the covenants, and the giving of the law, and the service of God, and the promises; %%% be Baisiraeri abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuteekerwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa; 45ROM009.005 Whose are the fathers, and of whom as concerning the flesh Christ came, who is over all, God blessed for ever. Amen. %%% abalina bajjajja abo, era omwava Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina. 45ROM009.006 Not as though the word of God hath taken none effect. For they are not all Israel, which are of Israel: %%% Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si ba Baisiraeri bonna: 45ROM009.007 Neither, because they are the seed of Abraham, are they all children: but, In Isaac shall thy seed be called. %%% so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebava babeera abaana bonna: naye, mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga. 45ROM009.008 That is, They which are the children of the flesh, these are not the children of God: but the children of the promise are counted for the seed. %%% Kwe kugamba nti abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde. 45ROM009.009 For this is the word of promise, At this time will I come, and Sarah shall have a son. %%% Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana. 45ROM009.010 And not only this; but when Rebecca also had conceived by one, even by our father Isaac; %%% Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe 45ROM009.011 (For the children being not yet born, neither having done any good or evil, that the purpose of God according to election might stand, not of works, but of him that calleth;) %%% kubanga nga tebannazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita, 45ROM009.012 It was said unto her, The elder shall serve the younger. %%% n'agambibwa nti Omukulu aliba muddu wa muto. 45ROM009.013 As it is written, Jacob have I loved, but Esau have I hated. %%% Nga bwe kyawandiikibwa ne Yakobo n'amwagala, naye Essawa n'amukyawa. 45ROM009.014 What shall we say then? Is there unrighteousness with God? God forbid. %%% Kale tunaayogera tutya? Obutali butuukirivu buli eri Katonda? Kitalo. 45ROM009.015 For he saith to Moses, I will have mercy on whom I will have mercy, and I will have compassion on whom I will have compassion. %%% Kubanga agamba Musa nti Ndisaasira gwe ndisaasira, gwe ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa. 45ROM009.016 So then it is not of him that willeth, nor of him that runneth, but of God that sheweth mercy. %%% Kale bwe kityo si ky'oyo ayagala newakubadde addukana, wabula kya Katonda asaasira. 45ROM009.017 For the scripture saith unto Pharaoh, Even for this same purpose have I raised thee up, that I might shew my power in thee, and that my name might be declared throughout all the earth. %%% Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna. 45ROM009.018 Therefore hath he mercy on whom he will have mercy, and whom he will he hardeneth. %%% Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza. 45ROM009.019 Thou wilt say then unto me, Why doth he yet find fault? For who hath resisted his will? %%% Kale onoŋŋamba nti Kiki ekimunenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala? 45ROM009.020 Nay but, O man, who art thou that repliest against God? Shall the thing formed say to him that formed it, Why hast thou made me thus? %%% Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti Kiki ekyakunkoza bw'oti? 45ROM009.021 Hath not the potter power over the clay, of the same lump to make one vessel unto honour, and another unto dishonour? %%% Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole kimu okukola ekibya kimu eky'ekitiibwa, n'ekirala eky'ensonyi? 45ROM009.022 What if God, willing to shew his wrath, and to make his power known, endured with much longsuffering the vessels of wrath fitted to destruction: %%% Kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira: 45ROM009.023 And that he might make known the riches of his glory on the vessels of mercy, which he had afore prepared unto glory, %%% alyoke amanyise obugagga obw'ekitiibwa kye ku bibya eby'okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa, 45ROM009.024 Even us, whom he hath called, not of the Jews only, but also of the Gentiles? %%% ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b'amawanga? 45ROM009.025 As he saith also in Osee, I will call them my people, which were not my people; and her beloved, which was not beloved. %%% Era nga bw'ayogera mu Koseya nti Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange; Era ataayagalwa, ayagaliddwa. 45ROM009.026 And it shall come to pass, that in the place where it was said unto them, Ye are not my people; there shall they be called the children of the living God. %%% Awo mu kifo kye baagambirwamu nti Mmwe temuli bantu bange, Mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu. 45ROM009.027 Esaias also crieth concerning Israel, Though the number of the children of Israel be as the sand of the sea, a remnant shall be saved: %%% Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokoka: 45ROM009.028 For he will finish the work, and cut it short in righteousness: because a short work will the Lord make upon the earth. %%% kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukiriza era ng'akisalako. 45ROM009.029 And as Esaias said before, Except the Lord of Sabaoth had left us a seed, we had been as Sodoma, and been made like unto Gomorrha. %%% Era nga Isaaya bwe yasooka okwogera nti Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde, Twandifuuse nga Sodomu, era twandifaanayizibbwa nga Ggomola. 45ROM009.030 What shall we say then? That the Gentiles, which followed not after righteousness, have attained to righteousness, even the righteousness which is of faith. %%% Kale tunaayogera tutya? Nti ab'amawanga, abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza; 45ROM009.031 But Israel, which followed after the law of righteousness, hath not attained to the law of righteousness. %%% naye Isiraeri, mu kugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali. 45ROM009.032 Wherefore? Because they sought it not by faith, but as it were by the works of the law. For they stumbled at that stumblingstone; %%% Lwaki? Kubanga tebaabugobereranga nga bayima mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako: 45ROM009.033 As it is written, Behold, I lay in Sion a stumblingstone and rock of offence: and whosoever believeth on him shall not be ashamed. %%% nga bwe kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olugwisa: Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi. 45ROM010.001 Brethren, my heart's desire and prayer to God for Israel is, that they might be saved. %%% Ab'oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke. 45ROM010.002 For I bear them record that they have a zeal of God, but not according to knowledge. %%% Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera. 45ROM010.003 For they being ignorant of God's righteousness, and going about to establish their own righteousness, have not submitted themselves unto the righteousness of God. %%% Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda. 45ROM010.004 For Christ is the end of the law for righteousness to every one that believeth. %%% Kubanga Kristo ye nkomerero y'amateeka olw'okuweesa obutuukirivu buli akkiriza. 45ROM010.005 For Moses describeth the righteousness which is of the law, That the man which doeth those things shall live by them. %%% Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola ye aliba omulamu mu bwo. 45ROM010.006 But the righteousness which is of faith speaketh on this wise, Say not in thine heart, Who shall ascend into heaven? (that is, to bring Christ down from above:) %%% Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti Toyogeranga mu mutima gwo nti Ani alirinnya mu ggulu? (kwe kuleeta Kristo wansi;) 45ROM010.007 Or, Who shall descend into the deep? (that is, to bring up Christ again from the dead.) %%% newakubadde nti Ani alikka emagombe? (kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu.) 45ROM010.008 But what saith it? The word is nigh thee, even in thy mouth, and in thy heart: that is, the word of faith, which we preach; %%% Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwako, ne mu mutima gwo: kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira: 45ROM010.009 That if thou shalt confess with thy mouth the Lord Jesus, and shalt believe in thine heart that God hath raised him from the dead, thou shalt be saved. %%% kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka: 45ROM010.010 For with the heart man believeth unto righteousness; and with the mouth confession is made unto salvation. %%% kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka. 45ROM010.011 For the scripture saith, Whosoever believeth on him shall not be ashamed. %%% Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi. 45ROM010.012 For there is no difference between the Jew and the Greek: for the same Lord over all is rich unto all that call upon him. %%% Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira: 45ROM010.013 For whosoever shall call upon the name of the Lord shall be saved. %%% kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka. 45ROM010.014 How then shall they call on him in whom they have not believed? and how shall they believe in him of whom they have not heard? and how shall they hear without a preacher? %%% Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira? 45ROM010.015 And how shall they preach, except they be sent? as it is written, How beautiful are the feet of them that preach the gospel of peace, and bring glad tidings of good things! %%% era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey'ebirungi! 45ROM010.016 But they have not all obeyed the gospel. For Esaias saith, Lord, who hath believed our report? %%% Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe? 45ROM010.017 So then faith cometh by hearing, and hearing by the word of God. %%% Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo. 45ROM010.018 But I say, Have they not heard? Yes verily, their sound went into all the earth, and their words unto the ends of the world. %%% Naye njogera nti Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, Eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z'ensi. 45ROM010.019 But I say, Did not Israel know? First Moses saith, I will provoke you to jealousy by them that are no people, and by a foolish nation I will anger you. %%% Naye njogera nti Isiraeri tamanyanga? Musa ye yasooka okwogera nu Ndibakwasa obuggya eri abatali ba ggwanga, Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza. 45ROM010.020 But Esaias is very bold, and saith, I was found of them that sought me not; I was made manifest unto them that asked not after me. %%% Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti Navumbulibwa abo abatannoonyanga, Nalagibwa eri abo abatambuulirizangako. 45ROM010.021 But to Israel he saith, All day long I have stretched forth my hands unto a disobedient and gainsaying people. %%% Naye eri Isiraeri ayogera nti Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana. 45ROM011.001 I say then, Hath God cast away his people? God forbid. For I also am an Israelite, of the seed of Abraham, of the tribe of Benjamin. %%% Naye eri Isiraeri ayogera nti Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana. 45ROM011.002 God hath not cast away his people which he foreknew. Wot ye not what the scripture saith of Elias? how he maketh intercession to God against Israel, saying, %%% Katonda teyagoba bantu be, be yamanya edda. Oba temumanyi ebya Eriya ebyawandiikibwa bwe byogera? bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Baisiraeri nti 45ROM011.003 Lord, they have killed thy prophets, and digged down thine altars; and I am left alone, and they seek my life. %%% Mukama, batta bannabbi bo, ne basuula ebyoto byo: nange nfisseewo nzekka, era banoonya obulamu bwange. 45ROM011.004 But what saith the answer of God unto him? I have reserved to myself seven thousand men, who have not bowed the knee to the image of Baal. %%% Naye okuddamu kwa Katonda kumugamba kutya? Nti Nze nneefissirizzaawo abasajja kasanvu, abatafukaamiriranga Baali. 45ROM011.005 Even so then at this present time also there is a remnant according to the election of grace. %%% Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo mu kulonda okw'ekisa. 45ROM011.006 And if by grace, then is it no more of works: otherwise grace is no more grace. But if it be of works, then is it no more grace: otherwise work is no more work. %%% Naye oba nga lwa kisa, si lwa bikolwa nate: oba nga si bwe kityo, ekisa si kisa nate. 45ROM011.007 What then? Israel hath not obtained that which he seeketh for; but the election hath obtained it, and the rest were blinded. %%% Kale tukole tutya? Isiraeri kye yanoonya, teyakiraba; naye abaalondebwa baakiraba, abalala ne bakakanyazibwa: 45ROM011.008 (According as it is written, God hath given them the spirit of slumber, eyes that they should not see, and ears that they should not hear;) unto this day. %%% nga bwe kyawandiikibwa nti Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero. 45ROM011.009 And David saith, Let their table be made a snare, and a trap, and a stumblingblock, and a recompence unto them: %%% Era Dawudi ayogera nti Emmeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu, N'enkonge, n'empeera gye bali: 45ROM011.010 Let their eyes be darkened, that they may not see, and bow down their back alway. %%% Amaaso gaabwe gasiikirizibwe obutalaba, Era obakutamyenga omugongo gwabwe bulijjo. 45ROM011.011 I say then, Have they stumbled that they should fall? God forbid: but rather through their fall salvation is come unto the Gentiles, for to provoke them to jealousy. %%% Kale njogera nti Kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kitalo: naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwava bujja eri ab'amawanga, okubakwasa obuggya. 45ROM011.012 Now if the fall of them be the riches of the world, and the diminishing of them the riches of the Gentiles; how much more their fulness? %%% Naye oba ng'okwonoona kwabwe bwe bugagga bw'ensi, n'okuweebuuka kwabwe bwe bugagga bw'ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekusinga nnyo? 45ROM011.013 For I speak to you Gentiles, inasmuch as I am the apostle of the Gentiles, I magnify mine office: %%% Naye mbagamba mmwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumiza okuweereza kwange: 45ROM011.014 If by any means I may provoke to emulation them which are my flesh, and might save some of them. %%% bwe ndiraba ekigambo kyonna kye ndikwasisa obuggya ab'omubiri gwange, ne ndokola abamu mu bo. 45ROM011.015 For if the casting away of them be the reconciling of the world, what shall the receiving of them be, but life from the dead? %%% Kuba oba ng'okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kiki, wabula obulamu mu bafu? 45ROM011.016 For if the firstfruit be holy, the lump is also holy: and if the root be holy, so are the branches. %%% Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kitukuvu: era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi matukuvu. 45ROM011.017 And if some of the branches be broken off, and thou, being a wild olive tree, wert graffed in among them, and with them partakest of the root and fatness of the olive tree; %%% Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwa, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, wasimbibwa mu go, n'ogatta wamu nago ekikolo eky'obugevvu obw'omuzeyituuni; 45ROM011.018 Boast not against the branches. But if thou boast, thou bearest not the root, but the root thee. %%% teweenyumiririzanga ku matabi: naye bwe weenyumirizanga, si ggwe weetisse ekikolo, naye ekikolo kye kyetisse ggwe. 45ROM011.019 Thou wilt say then, The branches were broken off, that I might be graffed in. %%% Kale onooyogera nti Amatabi kyegaava gawogolwa nze nsimbibweko. 45ROM011.020 Well; because of unbelief they were broken off, and thou standest by faith. Be not highminded, but fear: %%% Weewaawo; gaawogolwa lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga: 45ROM011.021 For if God spared not the natural branches, take heed lest he also spare not thee. %%% kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira. 45ROM011.022 Behold therefore the goodness and severity of God: on them which fell, severity; but toward thee, goodness, if thou continue in his goodness: otherwise thou also shalt be cut off. %%% Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda: eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe: bw'otoobeererenga, naawe oliwogolwa. 45ROM011.023 And they also, if they abide not still in unbelief, shall be graffed in: for God is able to graff them in again. %%% Era nabo, bwe bataabeererenga mu butakkiriza bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda ayinza okubasimbawo nate. 45ROM011.024 For if thou wert cut out of the olive tree which is wild by nature, and wert graffed contrary to nature into a good olive tree: how much more shall these, which be the natural branches, be graffed into their own olive tree? %%% Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo? 45ROM011.025 For I would not, brethren, that ye should be ignorant of this mystery, lest ye should be wise in your own conceits; that blindness in part is happened to Israel, until the fulness of the Gentiles be come in. %%% Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusa okutuukirira kw'ab'amawanga lwe kulituuka; 45ROM011.026 And so all Israel shall be saved: as it is written, There shall come out of Sion the Deliverer, and shall turn away ungodliness from Jacob: %%% era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka: nga bwe kyawandiikibwa nti Muliva mu Sayuuni Awonya; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo: 45ROM011.027 For this is my covenant unto them, when I shall take away their sins. %%% Era eno ye ndagaano yange eri bo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe. 45ROM011.028 As concerning the gospel, they are enemies for your sakes: but as touching the election, they are beloved for the fathers' sakes. %%% Mu njiri, be balabe ku lwammwe: naye mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajja. 45ROM011.029 For the gifts and calling of God are without repentance. %%% Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa. 45ROM011.030 For as ye in times past have not believed God, yet have now obtained mercy through their unbelief: %%% Kuba nga mmwe edda bwe mutaawulira Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obutawulira bw'abo, 45ROM011.031 Even so have these also now not believed, that through your mercy they also may obtain mercy. %%% bwe kityo nabo kaakati tebawulidde, olw'okusaasirwa kwammwe kaakati nabo balyoke basaasirwe. 45ROM011.032 For God hath concluded them all in unbelief, that he might have mercy upon all. %%% Kubanga Katonda yasiba bonna mu butawulira, alyoke asaasire bonna. 45ROM011.033 O the depth of the riches both of the wisdom and knowledge of God! how unsearchable are his judgments, and his ways past finding out! %%% Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika! 45ROM011.034 For who hath known the mind of the Lord? or who hath been his counsellor? %%% Kubanga ani eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? oba ani eyali amuwadde amagezi? 45ROM011.035 Or who hath first given to him, and it shall be recompensed unto him again? %%% oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, era aliddizibwa nate? 45ROM011.036 For of him, and through him, and to him, are all things: to whom be glory for ever. Amen. %%% Kubanga byonna biva gy'ali, era biyita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibeerenga gy'ali emirembe gyonna Amiina. 45ROM012.001 I beseech you therefore, brethren, by the mercies of God, that ye present your bodies a living sacrifice, holy, acceptable unto God, which is your reasonable service. %%% Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaayi: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. 45ROM012.002 And be not conformed to this world: but be ye transformed by the renewing of your mind, that ye may prove what is that good, and acceptable, and perfect, will of God. %%% So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu. 45ROM012.003 For I say, through the grace given unto me, to every man that is among you, not to think of himself more highly than he ought to think; but to think soberly, according as God hath dealt to every man the measure of faith. %%% Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza. 45ROM012.004 For as we have many members in one body, and all members have not the same office: %%% Kubanga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu: 45ROM012.005 So we, being many, are one body in Christ, and every one members one of another. %%% bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka. 45ROM012.006 Having then gifts differing according to the grace that is given to us, whether prophecy, let us prophesy according to the proportion of faith; %%% Era nga bwe tulina ebitenkanankana ng'ekisa kye twawebwa bwe kiri, oba bunabbi (tubuulirenga) mu kigera ky'okukiriza kwaffe; 45ROM012.007 Or ministry, let us wait on our ministering: or he that teacheth, on teaching; %%% oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; 45ROM012.008 Or he that exhorteth, on exhortation: he that giveth, let him do it with simplicity; he that ruleth, with diligence; he that sheweth mercy, with cheerfulness. %%% oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe; oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira asaasirenga n'essanyu. 45ROM012.009 Let love be without dissimulation. Abhor that which is evil; cleave to that which is good. %%% Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi. 45ROM012.010 Be kindly affectioned one to another with brotherly love; in honour preferring one another; %%% Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne; 45ROM012.011 Not slothful in business; fervent in spirit; serving the Lord; %%% mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe; 45ROM012.012 Rejoicing in hope; patient in tribulation; continuing instant in prayer; %%% musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba; 45ROM012.013 Distributing to the necessity of saints; given to hospitality. %%% mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi. 45ROM012.014 Bless them which persecute you: bless, and curse not. %%% Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga. 45ROM012.015 Rejoice with them that do rejoice, and weep with them that weep. %%% Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba. 45ROM012.016 Be of the same mind one toward another. Mind not high things, but condescend to men of low estate. Be not wise in your own conceits. %%% Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka. 45ROM012.017 Recompense to no man evil for evil. Provide things honest in the sight of all men. %%% Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna. 45ROM012.018 If it be possible, as much as lieth in you, live peaceably with all men. %%% Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna. 45ROM012.019 Dearly beloved, avenge not yourselves, but rather give place unto wrath: for it is written, Vengeance is mine; I will repay, saith the Lord. %%% Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama. 45ROM012.020 Therefore if thine enemy hunger, feed him; if he thirst, give him drink: for in so doing thou shalt heap coals of fire on his head. %%% Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe. 45ROM012.021 Be not overcome of evil, but overcome evil with good. %%% Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi. 45ROM013.001 Let every soul be subject unto the higher powers. For there is no power but of God: the powers that be are ordained of God. %%% Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda. 45ROM013.002 Whosoever therefore resisteth the power, resisteth the ordinance of God: and they that resist shall receive to themselves damnation. %%% Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakana balyezzaako omusango bo bokka. 45ROM013.003 For rulers are not a terror to good works, but to the evil. Wilt thou then not be afraid of the power? do that which is good, and thou shalt have praise of the same: %%% Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima: 45ROM013.004 For he is the minister of God to thee for good. But if thou do that which is evil, be afraid; for he beareth not the sword in vain: for he is the minister of God, a revenger to execute wrath upon him that doeth evil. %%% kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira kitala bwereere: kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi. 45ROM013.005 Wherefore ye must needs be subject, not only for wrath, but also for conscience sake. %%% Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye era ku lw'omwoyo gwammwe. 45ROM013.006 For for this cause pay ye tribute also: for they are God's ministers, attending continually upon this very thing. %%% Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo. 45ROM013.007 Render therefore to all their dues: tribute to whom tribute is due; custom to whom custom; fear to whom fear; honour to whom honour. %%% Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa. 45ROM013.008 Owe no man any thing, but to love one another: for he that loveth another hath fulfilled the law. %%% Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka. 45ROM013.009 For this, Thou shalt not commit adultery, Thou shalt not kill, Thou shalt not steal, Thou shalt not bear false witness, Thou shalt not covet; and if there be any other commandment, it is briefly comprehended in this saying, namely, Thou shalt love thy neighbour as thyself. %%% Kubanga kino nti Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga, n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka. 45ROM013.010 Love worketh no ill to his neighbour: therefore love is the fulfilling of the law. %%% Okwagala tekukola bubi muntu munne: okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka. 45ROM013.011 And that, knowing the time, that now it is high time to awake out of sleep: for now is our salvation nearer than when we believed. %%% Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo: kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga bwe twakkiriza. 45ROM013.012 The night is far spent, the day is at hand: let us therefore cast off the works of darkness, and let us put on the armour of light. %%% Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya: kale twambule ebikolwa eby'ekizikiza, era twambale eby'okulwanyisa eby'omusana. 45ROM013.013 Let us walk honestly, as in the day; not in rioting and drunkenness, not in chambering and wantonness, not in strife and envying. %%% Tutambulenga nga tuwoomye nga mu musana, si mu binyumu ne mu mbaga ez'okutamiiranga, si mu bwenzi n'obukaba, si mu kuyombanga n'obuggya. 45ROM013.014 But put ye on the Lord Jesus Christ, and make not provision for the flesh, to fulfil the lusts thereof. %%% Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba. 45ROM014.001 Him that is weak in the faith receive ye, but not to doubtful disputations. %%% Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye si lwa kusala musango gwa mpaka. 45ROM014.002 For one believeth that he may eat all things: another, who is weak, eateth herbs. %%% Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna: naye atali munywevu alya nva. 45ROM014.003 Let not him that eateth despise him that eateth not; and let not him which eateth not judge him that eateth: for God hath received him. %%% Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya: kubanga Katonda yamusembeza. 45ROM014.004 Who art thou that judgest another man's servant? to his own master he standeth or falleth. Yea, he shall be holden up: for God is able to make him stand. %%% Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? eri mukama we yekka ayimirira oba agwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza. 45ROM014.005 One man esteemeth one day above another: another esteemeth every day alike. Let every man be fully persuaded in his own mind. %%% Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka. 45ROM014.006 He that regardeth the day, regardeth it unto the Lord; and he that regardeth not the day, to the Lord he doth not regard it. He that eateth, eateth to the Lord, for he giveth God thanks; and he that eateth not, to the Lord he eateth not, and giveth God thanks. %%% Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda. 45ROM014.007 For none of us liveth to himself, and no man dieth to himself. %%% Kubanga tewali muntu mu ffe eyeebeerera omulamu ku bubwe yekka, era tewali eyeefiira ku bubwe yekka. 45ROM014.008 For whether we live, we live unto the Lord; and whether we die, we die unto the Lord: whether we live therefore, or die, we are the Lord's. %%% Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe: kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe. 45ROM014.009 For to this end Christ both died, and rose, and revived, that he might be Lord both of the dead and living. %%% Kubanga Kristo kyeyava afa n'abeera omulamu, alyoke abeerenga Mukama w'abafu era n'abalamu. 45ROM014.010 But why dost thou judge thy brother? or why dost thou set at nought thy brother? for we shall all stand before the judgment seat of Christ. %%% Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda. 45ROM014.011 For it is written, As I live, saith the Lord, every knee shall bow to me, and every tongue shall confess to God. %%% Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda. 45ROM014.012 So then every one of us shall give account of himself to God. %%% Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda. 45ROM014.013 Let us not therefore judge one another any more: but judge this rather, that no man put a stumblingblock or an occasion to fall in his brother's way. %%% Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka: naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge. 45ROM014.014 I know, and am persuaded by the Lord Jesus, that there is nothing unclean of itself: but to him that esteemeth any thing to be unclean, to him it is unclean. %%% Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kintu kya muzizo mu buwangwa bwakyo: wabula eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo. 45ROM014.015 But if thy brother be grieved with thy meat, now walkest thou not charitably. Destroy not him with thy meat, for whom Christ died. %%% Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira. 45ROM014.016 Let not then your good be evil spoken of: %%% Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa: 45ROM014.017 For the kingdom of God is not meat and drink; but righteousness, and peace, and joy in the Holy Ghost. %%% kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu: 45ROM014.018 For he that in these things serveth Christ is acceptable to God, and approved of men. %%% Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima. 45ROM014.019 Let us therefore follow after the things which make for peace, and things wherewith one may edify another. %%% Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka. 45ROM014.020 For meat destroy not the work of God. All things indeed are pure; but it is evil for that man who eateth with offence. %%% Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala. 45ROM014.021 It is good neither to eat flesh, nor to drink wine, nor any thing whereby thy brother stumbleth, or is offended, or is made weak. %%% Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya. 45ROM014.022 Hast thou faith? have it to thyself before God. Happy is he that condemneth not himself in that thing which he alloweth. %%% Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima. 45ROM014.023 And he that doubteth is damned if he eat, because he eateth not of faith: for whatsoever is not of faith is sin. %%% Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi. 45ROM015.001 We then that are strong ought to bear the infirmities of the weak, and not to please ourselves. %%% Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka. 45ROM015.002 Let every one of us please his neighbour for his good to edification. %%% Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba. 45ROM015.003 For even Christ pleased not himself; but, as it is written, The reproaches of them that reproached thee fell on me. %%% Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze. 45ROM015.004 For whatsoever things were written aforetime were written for our learning, that we through patience and comfort of the scriptures might have hope. %%% Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n'okusuubira olw'okugumiikiriza n'olw'okusanyusa kw'ebyawandiikibwa. 45ROM015.005 Now the God of patience and consolation grant you to be likeminded one toward another according to Christ Jesus: %%% Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu: 45ROM015.006 That ye may with one mind and one mouth glorify God, even the Father of our Lord Jesus Christ. %%% mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'akamwa akamu. 45ROM015.007 Wherefore receive ye one another, as Christ also received us to the glory of God. %%% Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda. 45ROM015.008 Now I say that Jesus Christ was a minister of the circumcision for the truth of God, to confirm the promises made unto the fathers: %%% Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja, 45ROM015.009 And that the Gentiles might glorify God for his mercy; as it is written, For this cause I will confess to thee among the Gentiles, and sing unto thy name. %%% era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti Kye nnaavanga nkwatula mu b'amawanga, Era nnaayimbiranga erinnya lyo. 45ROM015.010 And again he saith, Rejoice, ye Gentiles, with his people. %%% Era nate ayogera nti Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be. 45ROM015.011 And again, Praise the Lord, all ye Gentiles; and laud him, all ye people. %%% Era nate nti Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna; Era ebika byonna bimutenderezenga. 45ROM015.012 And again, Esaias saith, There shall be a root of Jesse, and he that shall rise to reign over the Gentiles; in him shall the Gentiles trust. %%% Era nate Isaaya ayogera nti Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Oyo ab'amawanga gwe balisuubira. 45ROM015.013 Now the God of hope fill you with all joy and peace in believing, that ye may abound in hope, through the power of the Holy Ghost. %%% Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu. 45ROM015.014 And I myself also am persuaded of you, my brethren, that ye also are full of goodness, filled with all knowledge, able also to admonish one another. %%% Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragana mwekka na mwekka. 45ROM015.015 Nevertheless, brethren, I have written the more boldly unto you in some sort, as putting you in mind, because of the grace that is given to me of God, %%% Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga kubajjukiza na olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda 45ROM015.016 That I should be the minister of Jesus Christ to the Gentiles, ministering the gospel of God, that the offering up of the Gentiles might be acceptable, being sanctified by the Holy Ghost. %%% nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulimu gwa kabona, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'ekuzibwa Omwoyo Omutukuvu. 45ROM015.017 I have therefore whereof I may glory through Jesus Christ in those things which pertain to God. %%% Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda. 45ROM015.018 For I will not dare to speak of any of those things which Christ hath not wrought by me, to make the Gentiles obedient, by word and deed, %%% Kubanga siryaŋŋanga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa, 45ROM015.019 Through mighty signs and wonders, by the power of the Spirit of God; so that from Jerusalem, and round about unto Illyricum, I have fully preached the gospel of Christ. %%% mu maanyi g'obubonero n’eby'amagero, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukiriza enjiri Kristo; 45ROM015.020 Yea, so have I strived to preach the gospel, not where Christ was named, lest I should build upon another man's foundation: %%% naye nga njagala ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, si awayatulibwa erinnya lya Kristo nnemenga okuzimba ku musingi gwa beene; 45ROM015.021 But as it is written, To whom he was not spoken of, they shall see: and they that have not heard shall understand. %%% naye nga bwe kyawandiikibwa nti Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye, Era abataawulira balitegeera. 45ROM015.022 For which cause also I have been much hindered from coming to you. %%% Era kyennavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye muli; 45ROM015.023 But now having no more place in these parts, and having a great desire these many years to come unto you; %%% naye kaakati, kubanga sikyalina bbanga mu nsi zino, era kubanga, okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli, 45ROM015.024 Whensoever I take my journey into Spain, I will come to you: for I trust to see you in my journey, and to be brought on my way thitherward by you, if first I be somewhat filled with your company. %%% we ndigendera mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, mmwe mumperekereko okuntuusa eyo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe); 45ROM015.025 But now I go unto Jerusalem to minister unto the saints. %%% naye kaakati ŋŋenda e Yerusalemi, okuweereza abatukuvu. 45ROM015.026 For it hath pleased them of Macedonia and Achaia to make a certain contribution for the poor saints which are at Jerusalem. %%% Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okusolooleza ebintu abaavu ab'omu batukuvu abali Yerusaalemi. 45ROM015.027 It hath pleased them verily; and their debtors they are. For if the Gentiles have been made partakers of their spiritual things, their duty is also to minister unto them in carnal things. %%% Kubanga basiima; era nga bababanja. Kuba oba ng'ab'amawanga basseekimu n'ebyabwe eby'omwoyo, babanja okubaweereza nate eby'omubiri. 45ROM015.028 When therefore I have performed this, and have sealed to them this fruit, I will come by you into Spain. %%% Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebibala ebyo ndivaayo, okuyita ewammwe okugenda e Supaniya. 45ROM015.029 And I am sure that, when I come unto you, I shall come in the fulness of the blessing of the gospel of Christ. %%% Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli ndijja mu mukisa gwa Kristo nga gutuukiridde. 45ROM015.030 Now I beseech you, brethren, for the Lord Jesus Christ's sake, and for the love of the Spirit, that ye strive together with me in your prayers to God for me; %%% Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda; 45ROM015.031 That I may be delivered from them that do not believe in Judaea; and that my service which I have for Jerusalem may be accepted of the saints; %%% ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu; 45ROM015.032 That I may come unto you with joy by the will of God, and may with you be refreshed. %%% ndyoke njije gye muli n'essanyu olw'okwagala kwa Katonda, mpummulire wamu nammwe. 45ROM015.033 Now the God of peace be with you all. Amen. %%% Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina. 45ROM016.001 I commend unto you Phebe our sister, which is a servant of the church which is at Cenchrea: %%% Mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, ye muweereza w'ekkanisa ey'omu Kenkereya: 45ROM016.002 That ye receive her in the Lord, as becometh saints, and that ye assist her in whatsoever business she hath need of you: for she hath been a succourer of many, and of myself also. %%% mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga gye muli: kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini. 45ROM016.003 Greet Priscilla and Aquila my helpers in Christ Jesus: %%% Mumulamuse Pulisika ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu, 45ROM016.004 Who have for my life laid down their own necks: unto whom not only I give thanks, but also all the churches of the Gentiles. %%% abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga: 45ROM016.005 Likewise greet the church that is in their house. Salute my well-beloved Epaenetus, who is the firstfruits of Achaia unto Christ. %%% era mulamuse ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo. 45ROM016.006 Greet Mary, who bestowed much labour on us. %%% Mulamuse Malyamu, eyabakolera mmwe emirimu emingi. 45ROM016.007 Salute Andronicus and Junia, my kinsmen, and my fellow-prisoners, who are of note among the apostles, who also were in Christ before me. %%% Mulamuse Anduloniiko ne Yuniya, ab'ekika kyange, era abaasibirwa awamu nange, ab'amaanyi mu batume, era abansooka okubeera mu Kristo. 45ROM016.008 Greet Amplias my beloved in the Lord. %%% Mulamuse Ampuliyaato, gwe njagala mu Mukama waffe. 45ROM016.009 Salute Urbane, our helper in Christ, and Stachys my beloved. %%% Mulamuse Ulubano, akolera awamu naffe mu Kristo, ne Sutaku gwe njagala. 45ROM016.010 Salute Apelles approved in Christ. Salute them which are of Aristobulus' household. %%% Mulamuse Apere akkirizibwa mu Kristo. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Alisutobulo. 45ROM016.011 Salute Herodion my kinsman. Greet them that be of the household of Narcissus, which are in the Lord. %%% Mulamuse Kerodiyoni, ow'ekika kyange. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Nalukiso, abali mu Mukama waffe. 45ROM016.012 Salute Tryphena and Tryphosa, who labour in the Lord. Salute the beloved Persis, which laboured much in the Lord. %%% Mulamuse Terufayina ne Terufoosa abaakola emirimu mu Mukama waffe. Mulamuse Perusi omwagalwa, eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe. 45ROM016.013 Salute Rufus chosen in the Lord, and his mother and mine. %%% Mulamuse Luufo, eyalondebwa mu Mukama waffe, ne nnyina, ye mmange. 45ROM016.014 Salute Asyncritus, Phlegon, Hermas, Patrobas, Hermes, and the brethren which are with them. %%% Mulamuse Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n'ab'oluganda abali awamu nabo. 45ROM016.015 Salute Philologus, and Julia, Nereus, and his sister, and Olympas, and all the saints which are with them. %%% Mulamuse Firologo ne Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa, n'abatukuvu bonna abali awamu nabo. 45ROM016.016 Salute one another with an holy kiss. The churches of Christ salute you. %%% Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo zibalamusizza. 45ROM016.017 Now I beseech you, brethren, mark them which cause divisions and offences contrary to the doctrine which ye have learned; and avoid them. %%% Era mbeegayiridde, ab'oluganda, mutunuulirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'eby'okwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga: mubakubenga amabega abo. 45ROM016.018 For they that are such serve not our Lord Jesus Christ, but their own belly; and by good words and fair speeches deceive the hearts of the simple. %%% Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbuto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi. 45ROM016.019 For your obedience is come abroad unto all men. I am glad therefore on your behalf: but yet I would have you wise unto that which is good, and simple concerning evil. %%% Kubanga okuwulira kwammwe kwabuna mu bonna. Kyenvudde mbasanyukira mmwe: naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mu bulungi, era abasirusiru mu bubi. 45ROM016.020 And the God of peace shall bruise Satan under your feet shortly. The grace of our Lord Jesus Christ be with you. Amen. %%% Era Katonda ow'emirembe alibetenta Setaani wansi w'ebigere byammwe mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe. 45ROM016.021 Timotheus my workfellow, and Lucius, and Jason, and Sosipater, my kinsmen, salute you. %%% Timoseewo, akolera awamu nange, abalamusizza; ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, ab'ekika kyange. 45ROM016.022 I Tertius, who wrote this epistle, salute you in the Lord. %%% Nze Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe. 45ROM016.023 Gaius mine host, and of the whole church, saluteth you. Erastus the chamberlain of the city saluteth you, and Quartus a brother. %%% Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda. 45ROM016.024 The grace of our Lord Jesus Christ be with you all. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Kristo Yesu Kibeerenga nammwe mwenna. Amiina. 45ROM016.025 Now to him that is of power to stablish you according to my gospel, and the preaching of Jesus Christ, according to the revelation of the mystery, which was kept secret since the world began, %%% Era oyo ayinza okubanyweza ng'enjiri yange n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe, 45ROM016.026 But now is made manifest, and by the scriptures of the prophets, according to the commandment of the everlasting God, made known to all nations for the obedience of faith: %%% naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza; 45ROM016.027 To God only wise, be glory through Jesus Christ for ever. Amen. %%% Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo. 46C1O001.001 Paul, called to be an apostle of Jesus Christ through the will of God, and Sosthenes our brother, %%% Paulo, eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw'okwagala kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda, 46C1O001.002 Unto the church of God which is at Corinth, to them that are sanctified in Christ Jesus, called to be saints, with all that in every place call upon the name of Jesus Christ our Lord, both theirs and ours: %%% eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe: 46C1O001.003 Grace be unto you, and peace, from God our Father, and from the Lord Jesus Christ. %%% ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo. 46C1O001.004 I thank my God always on your behalf, for the grace of God which is given you by Jesus Christ; %%% Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw'ekisa kya Katonda kye mwaweerwa mu Kristo Yesu; 46C1O001.005 That in every thing ye are enriched by him, in all utterance, and in all knowledge; %%% kubanga mu buli kigambo mwagaggawalira mu ye, mu kwogera kwonna ne mu kutegeera kwonna; 46C1O001.006 Even as the testimony of Christ was confirmed in you: %%% ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezebwa mu mmwe: 46C1O001.007 So that ye come behind in no gift; waiting for the coming of our Lord Jesus Christ: %%% mmwe obutaweebuuka mu kirabo kyonna; nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo; 46C1O001.008 Who shall also confirm you unto the end, that ye may be blameless in the day of our Lord Jesus Christ. %%% era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, obutabaako kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. 46C1O001.009 God is faithful, by whom ye were called unto the fellowship of his Son Jesus Christ our Lord. %%% Katonda mwesigwa, eyabayisa okuyingira mu kusseekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe. 46C1O001.010 Now I beseech you, brethren, by the name of our Lord Jesus Christ, that ye all speak the same thing, and that there be no divisions among you; but that ye be perfectly joined together in the same mind and in the same judgment. %%% Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna okwogeranga obumu, so okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mugattirwenga ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu. 46C1O001.011 For it hath been declared unto me of you, my brethren, by them which are of the house of Chloe, that there are contentions among you. %%% Kubanga nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab'omu nnyumba ya Kuloowe, ng'eriyo ennyombo mu mmwe. 46C1O001.012 Now this I say, that every one of you saith, I am of Paul; and I of Apollos; and I of Cephas; and I of Christ. %%% Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; nange wa Apolo; nange wa Keefa; nange wa Kristo: 46C1O001.013 Is Christ divided? was Paul crucified for you? or were ye baptized in the name of Paul? %%% Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku lwammwe? oba mwabatizibwa okuyingira mu linnya lya Pawulo? 46C1O001.014 I thank God that I baptized none of you, but Crispus and Gaius; %%% Nneebaza Katonda kubanga sibatizanga muntu yenna mu mmwe, wabula Kulisupo ne Gaayo; 46C1O001.015 Lest any should say that I had baptized in mine own name. %%% omuntu yenna alemenga okwogera nga mwabatizibwa okuyingira mu linnya lyange: 46C1O001.016 And I baptized also the household of Stephanas: besides, I know not whether I baptized any other. %%% Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana: nate simanyi nga nnabatiza omulala yenna. 46C1O001.017 For Christ sent me not to baptize, but to preach the gospel: not with wisdom of words, lest the cross of Christ should be made of none effect. %%% Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere. 46C1O001.018 For the preaching of the cross is to them that perish foolishness; but unto us which are saved it is the power of God. %%% Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokebwa ge maanyi ga Katonda. 46C1O001.019 For it is written, I will destroy the wisdom of the wise, and will bring to nothing the understanding of the prudent. %%% Kubanga kyawandiikibwa nti Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo. 46C1O001.020 Where is the wise? where is the scribe? where is the disputer of this world? hath not God made foolish the wisdom of this world? %%% Omugezigezi aluwa? omuwaadiisi aluwa? omuwakanyi ow'omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi? 46C1O001.021 For after that in the wisdom of God the world by wisdom knew not God, it pleased God by the foolishness of preaching to save them that believe. %%% Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw'amagezi gaayo bw'etaategeera Katonda, Katonda n'asiima olw'obusirusiru obw'okubuulira okwo okulokola abo abakkiriza. 46C1O001.022 For the Jews require a sign, and the Greeks seek after wisdom: %%% Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani banoonya amagezi: 46C1O001.023 But we preach Christ crucified, unto the Jews a stumblingblock, and unto the Greeks foolishness; %%% naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru; 46C1O001.024 But unto them which are called, both Jews and Greeks, Christ the power of God, and the wisdom of God. %%% naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda. 46C1O001.025 Because the foolishness of God is wiser than men; and the weakness of God is stronger than men. %%% Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi. 46C1O001.026 For ye see your calling, brethren, how that not many wise men after the flesh, not many mighty, not many noble, are called: %%% Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi: 46C1O001.027 But God hath chosen the foolish things of the world to confound the wise; and God hath chosen the weak things of the world to confound the things which are mighty; %%% naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi; 46C1O001.028 And base things of the world, and things which are despised, hath God chosen, yea, and things which are not, to bring to nought things that are: %%% n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo: 46C1O001.029 That no flesh should glory in his presence. %%% omubiri gwonna gulemenga okwenyumiriza mu maaso ga Katonda. 46C1O001.030 But of him are ye in Christ Jesus, who of God is made unto us wisdom, and righteousness, and sanctification, and redemption: %%% Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu n'okutukuzibwa, n'okununulibwa: 46C1O001.031 That, according as it is written, He that glorieth, let him glory in the Lord. %%% nga bwe kyawandiikibwa nti Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama. 46C1O002.001 And I, brethren, when I came to you, came not with excellency of speech or of wisdom, declaring unto you the testimony of God. %%% Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda, 46C1O002.002 For I determined not to know any thing among you, save Jesus Christ, and him crucified. %%% Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa. 46C1O002.003 And I was with you in weakness, and in fear, and in much trembling. %%% Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi. 46C1O002.004 And my speech and my preaching was not with enticing words of man's wisdom, but in demonstration of the Spirit and of power: %%% N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi: 46C1O002.005 That your faith should not stand in the wisdom of men, but in the power of God. %%% okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda. 46C1O002.006 Howbeit we speak wisdom among them that are perfect: yet not the wisdom of this world, nor of the princes of this world, that come to nought: %%% Naye amagezi tugoogera mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali ga mu mirembe gino, era agatali ga bakulu ab'omu mirembe gino, abaggwaawo: 46C1O002.007 But we speak the wisdom of God in a mystery, even the hidden wisdom, which God ordained before the world unto our glory: %%% naye twogera amagezi ga Katonda mu kyama, gali agakisibwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe: 46C1O002.008 Which none of the princes of this world knew: for had they known it, they would not have crucified the Lord of glory. %%% abakulu bonna ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omu: kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama wa kitiibwa: 46C1O002.009 But as it is written, Eye hath not seen, nor ear heard, neither have entered into the heart of man, the things which God hath prepared for them that love him. %%% naye nga bwe kyawandiikibwa nti Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala. 46C1O002.010 But God hath revealed them unto us by his Spirit: for the Spirit searcheth all things, yea, the deep things of God. %%% Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda. 46C1O002.011 For what man knoweth the things of a man, save the spirit of man which is in him? even so the things of God knoweth no man, but the Spirit of God. %%% Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. 46C1O002.012 Now we have received, not the spirit of the world, but the spirit which is of God; that we might know the things that are freely given to us of God. %%% Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa. 46C1O002.013 Which things also we speak, not in the words which man's wisdom teacheth, but which the Holy Ghost teacheth; comparing spiritual things with spiritual. %%% N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo. 46C1O002.014 But the natural man receiveth not the things of the Spirit of God: for they are foolishness unto him: neither can he know them, because they are spiritually discerned. %%% Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kabitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo. 46C1O002.015 But he that is spiritual judgeth all things, yet he himself is judged of no man. %%% Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna. 46C1O002.016 For who hath known the mind of the Lord, that he may instruct him? But we have the mind of Christ. %%% Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza kwa Kristo. 46C1O003.001 And I, brethren, could not speak unto you as unto spiritual, but as unto carnal, even as unto babes in Christ. %%% Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo. 46C1O003.002 I have fed you with milk, and not with meat: for hitherto ye were not able to bear it, neither yet now are ye able. %%% Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza: naye era ne kaakano temunnagiyinza; 46C1O003.003 For ye are yet carnal: for whereas there is among you envying, and strife, and divisions, are ye not carnal, and walk as men? %%% kubanga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu? 46C1O003.004 For while one saith, I am of Paul; and another, I am of Apollos; are ye not carnal? %%% Kubanga omuntu bw'ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; n'omulala nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu? 46C1O003.005 Who then is Paul, and who is Apollos, but ministers by whom ye believed, even as the Lord gave to every man? %%% Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa. 46C1O003.006 I have planted, Apollos watered; but God gave the increase. %%% Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza. 46C1O003.007 So then neither is he that planteth any thing, neither he that watereth; but God that giveth the increase. %%% Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza. 46C1O003.008 Now he that planteth and he that watereth are one: and every man shall receive his own reward according to his own labour. %%% Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba. 46C1O003.009 For we are labourers together with God: ye are God's husbandry, ye are God's building. %%% Kubanga Katonda tuli bakozi banne: muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda. 46C1O003.010 According to the grace of God which is given unto me, as a wise masterbuilder, I have laid the foundation, and another buildeth thereon. But let every man take heed how he buildeth thereupon. %%% Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako. 46C1O003.011 For other foundation can no man lay than that is laid, which is Jesus Christ. %%% Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo. 46C1O003.012 Now if any man build upon this foundation gold, silver, precious stones, wood, hay, stubble; %%% Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro; 46C1O003.013 Every man's work shall be made manifest: for the day shall declare it, because it shall be revealed by fire; and the fire shall try every man's work of what sort it is. %%% omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana. 46C1O003.014 If any man's work abide which he hath built thereupon, he shall receive a reward. %%% Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera. 46C1O003.015 If any man's work shall be burned, he shall suffer loss: but he himself shall be saved; yet so as by fire. %%% Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro. 46C1O003.016 Know ye not that ye are the temple of God, and that the Spirit of God dwelleth in you? %%% Temumaayi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe? 46C1O003.017 If any man defile the temple of God, him shall God destroy; for the temple of God is holy, which temple ye are. %%% Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe: 46C1O003.018 Let no man deceive himself. If any man among you seemeth to be wise in this world, let him become a fool, that he may be wise. %%% Omuntu yenna teyeerimbanga; Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi. 46C1O003.019 For the wisdom of this world is foolishness with God. For it is written, He taketh the wise in their own craftiness. %%% Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa ati Akwasa abagezi enkwe zaabwe: 46C1O003.020 And again, The Lord knoweth the thoughts of the wise, that they are vain. %%% era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu. 46C1O003.021 Therefore let no man glory in men. For all things are yours; %%% Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe; 46C1O003.022 Whether Paul, or Apollos, or Cephas, or the world, or life, or death, or things present, or things to come; all are yours; %%% oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe; 46C1O003.023 And ye are Christ's; and Christ is God's. %%% nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda. 46C1O004.001 Let a man so account of us, as of the ministers of Christ, and stewards of the mysteries of God. %%% Omuntu atulowoozenga bw'ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda: 46C1O004.002 Moreover it is required in stewards, that a man be found faithful. %%% Era wano kigwanira abawanika, omuntu okulabikanga nga mwesigwa. 46C1O004.003 But with me it is a very small thing that I should be judged of you, or of man's judgment: yea, I judge not mine own self. %%% Naye ku nze kigambo kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango: 46C1O004.004 For I know nothing by myself; yet am I not hereby justified: but he that judgeth me is the Lord. %%% Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe. 46C1O004.005 Therefore judge nothing before the time, until the Lord come, who both will bring to light the hidden things of darkness, and will make manifest the counsels of the hearts: and then shall every man have praise of God. %%% Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda. 46C1O004.006 And these things, brethren, I have in a figure transferred to myself and to Apollos for your sakes; that ye might learn in us not to think of men above that which is written, that no one of you be puffed up for one against another. %%% Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala. 46C1O004.007 For who maketh thee to differ from another? and what hast thou that thou didst not receive? now if thou didst receive it, why dost thou glory, as if thou hadst not received it? %%% Kubanga akwawula ye ani? era olina ki ky'otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa? 46C1O004.008 Now ye are full, now ye are rich, ye have reigned as kings without us: and I would to God ye did reign, that we also might reign with you. %%% Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe: era mubeera kufuga nandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe. 46C1O004.009 For I think that God hath set forth us the apostles last, as it were appointed to death: for we are made a spectacle unto the world, and to angels, and to men. %%% Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatwolesa enkomerero ng'abataaleme kufa: kubanga twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n'abantu. 46C1O004.010 We are fools for Christ's sake, but ye are wise in Christ; we are weak, but ye are strong; ye are honourable, but we are despised. %%% Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa. 46C1O004.011 Even unto this present hour we both hunger, and thirst, and are naked, and are buffeted, and have no certain dwellingplace; %%% Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe; 46C1O004.012 And labour, working with our own hands: being reviled, we bless; being persecuted, we suffer it: %%% era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe: bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza; 46C1O004.013 Being defamed, we intreat: we are made as the filth of the world, and are the offscouring of all things unto this day. %%% bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi; empitambi eza byonna, okutuusa kaakano. 46C1O004.014 I write not these things to shame you, but as my beloved sons I warn you. %%% Ebyo ssibiwandiika kubakwasa nsonyi, wabula okubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa. 46C1O004.015 For though ye have ten thousand instructors in Christ, yet have ye not many fathers: for in Christ Jesus I have begotten you through the gospel. %%% Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza kakumi mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze nabazaaza enjiri mu Kristo Yesu: 46C1O004.016 Wherefore I beseech you, be ye followers of me. %%% Kyenva mbeegayirira okungobereranga: 46C1O004.017 For this cause have I sent unto you Timotheus, who is my beloved son, and faithful in the Lord, who shall bring you into remembrance of my ways which be in Christ, as I teach every where in every church. %%% Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, alibajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa. 46C1O004.018 Now some are puffed up, as though I would not come to you. %%% Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli. 46C1O004.019 But I will come to you shortly, if the Lord will, and will know, not the speech of them which are puffed up, but the power. %%% Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si kigambo kyabwe. 46C1O004.020 For the kingdom of God is not in word, but in power. %%% Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kigambo, wabula mu maanyi. 46C1O004.021 What will ye? shall I come unto you with a rod, or in love, and in the spirit of meekness? %%% Mwagalako ki? njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu? 46C1O005.001 It is reported commonly that there is fornication among you, and such fornication as is not so much as named among the Gentiles, that one should have his father's wife. %%% N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kitaawe. 46C1O005.002 And ye are puffed up, and have not rather mourned, that he that hath done this deed might be taken away from among you. %%% Nammwe mwegulumizizza; so temwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe. 46C1O005.003 For I verily, as absent in body, but present in spirit, have judged already, as though I were present, concerning him that hath so done this deed, %%% Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo, 46C1O005.004 In the name of our Lord Jesus Christ, when ye are gathered together, and my spirit, with the power of our Lord Jesus Christ, %%% mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu, 46C1O005.005 To deliver such an one unto Satan for the destruction of the flesh, that the spirit may be saved in the day of the Lord Jesus. %%% okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gutokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 46C1O005.006 Your glorying is not good. Know ye not that a little leaven leaveneth the whole lump? %%% Okwenyumiriza kwammwe si kulungi: Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? 46C1O005.007 Purge out therefore the old leaven, that ye may be a new lump, as ye are unleavened. For even Christ our passover is sacrificed for us: %%% Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo: 46C1O005.008 Therefore let us keep the feast, not with old leaven, neither with the leaven of malice and wickedness; but with the unleavened bread of sincerity and truth. %%% kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima. 46C1O005.009 I wrote unto you in an epistle not to company with fornicators: %%% Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi; 46C1O005.010 Yet not altogether with the fornicators of this world, or with the covetous, or extortioners, or with idolaters; for then must ye needs go out of the world. %%% so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi: 46C1O005.011 But now I have written unto you not to keep company, if any man that is called a brother be a fornicator, or covetous, or an idolater, or a railer, or a drunkard, or an extortioner; with such an one no not to eat. %%% naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.s 46C1O005.012 For what have I to do to judge them also that are without? do not ye judge them that are within? %%% Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju? 46C1O005.013 But them that are without God judgeth. Therefore put away from among yourselves that wicked person. %%% Naye ab'ebweru Katonda ye abasalira omusango. Omubi oyo mumuggye mu mmwe. 46C1O006.001 Dare any of you, having a matter against another, go to law before the unjust, and not before the saints? %%% Omuntu yenna ku mmwe bw'aba n'ekigambo ku munne, ayaŋŋanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu? 46C1O006.002 Do ye not know that the saints shall judge the world? and if the world shall be judged by you, are ye unworthy to judge the smallest matters? %%% Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? era oba ng'ensi mmwe muligisalira omusango, temusaanira kusala nsonga entono ennyo. 46C1O006.003 Know ye not that we shall judge angels? how much more things that pertain to this life? %%% Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? tulirema tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno? 46C1O006.004 If then ye have judgments of things pertaining to this life, set them to judge who are least esteemed in the church. %%% Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kkanisa abo be muteekawo? 46C1O006.005 I speak to your shame. Is it so, that there is not a wise man among you? no, not one that shall be able to judge between his brethren? %%% Njogedde kubakwasa nsonyi. Kiri bwe kityo nti mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga, 46C1O006.006 But brother goeth to law with brother, and that before the unbelievers. %%% naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza? 46C1O006.007 Now therefore there is utterly a fault among you, because ye go to law one with another. Why do ye not rather take wrong? why do ye not rather suffer yourselves to be defrauded? %%% Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? 46C1O006.008 Nay, ye do wrong, and defraud, and that your brethren. %%% Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda. 46C1O006.009 Know ye not that the unrighteous shall not inherit the kingdom of God? Be not deceived: neither fornicators, nor idolaters, nor adulterers, nor effeminate, nor abusers of themselves with mankind, %%% Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, 46C1O006.010 Nor thieves, nor covetous, nor drunkards, nor revilers, nor extortioners, shall inherit the kingdom of God. %%% newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. 46C1O006.011 And such were some of you: but ye are washed, but ye are sanctified, but ye are justified in the name of the Lord Jesus, and by the Spirit of our God. %%% Era abamu ku mnwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe. 46C1O006.012 All things are lawful unto me, but all things are not expedient: all things are lawful for me, but I will not be brought under the power of any. %%% Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna. 46C1O006.013 Meats for the belly, and the belly for meats: but God shall destroy both it and them. Now the body is not for fornication, but for the Lord; and the Lord for the body. %%% Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri: 46C1O006.014 And God hath both raised up the Lord, and will also raise up us by his own power. %%% era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge. 46C1O006.015 Know ye not that your bodies are the members of Christ? shall I then take the members of Christ, and make them the members of an harlot? God forbid. %%% Temumanyi ng'emibiri gyammwe bye bitundu bya Kristo? kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo. 46C1O006.016 What? know ye not that he which is joined to an harlot is one body? for two, saith he, shall be one flesh. %%% Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? kubanga ayogera nti Bombiriri banaabeeraaga omubiri gumu. 46C1O006.017 But he that is joined unto the Lord is one spirit. %%% Naye eyeegatta ne Mukama waffe gwe mwoyo gumu. 46C1O006.018 Flee fornication. Every sin that a man doeth is without the body; but he that committeth fornication sinneth against his own body. %%% Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye: 46C1O006.019 What? know ye not that your body is the temple of the Holy Ghost which is in you, which ye have of God, and ye are not your own? %%% Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe; 46C1O006.020 For ye are bought with a price: therefore glorify God in your body, and in your spirit, which are God's. %%% kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe. 46C1O007.001 Now concerning the things whereof ye wrote unto me: It is good for a man not to touch a woman. %%% Naye ku ebyo bye mwampandiikira; kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. 46C1O007.002 Nevertheless, to avoid fornication, let every man have his own wife, and let every woman have her own husband. %%% Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye. 46C1O007.003 Let the husband render unto the wife due benevolence: and likewise also the wife unto the husband. %%% Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n'omukazi asasulenga bw'atyo omusajja. 46C1O007.004 The wife hath not power of her own body, but the husband: and likewise also the husband hath not power of his own body, but the wife. %%% Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we. 46C1O007.005 Defraud ye not one the other, except it be with consent for a time, that ye may give yourselves to fasting and prayer; and come together again, that Satan tempt you not for your incontinency. %%% Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe. 46C1O007.006 But I speak this by permission, and not of commandment. %%% Naye ebyo mbyogera nga nzikiriza bukkiriza, so siteeka tteeka. 46C1O007.007 For I would that all men were even as I myself. But every man hath his proper gift of God, one after this manner, and another after that. %%% Naye nandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye ye, ekiva eri Katonda, omulala bw'ati, n'omulala bw'ati. 46C1O007.008 I say therefore to the unmarried and widows, It is good for them if they abide even as I. %%% Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze. 46C1O007.009 But if they cannot contain, let them marry: for it is better to marry than to burn. %%% Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbiriganwenga: kubanga kye kirungi okufumbiriganwanga okusinga okwakanga. 46C1O007.010 And unto the married I command, yet not I, but the Lord, Let not the wife depart from her husband: %%% Naye abaamala okufuumbirwaganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku musajja we 46C1O007.011 But and if she depart, let her remain unmarried, or be reconciled to her husband: and let not the husband put away his wife. %%% (naye okunoba bw'anobanga, abeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we. 46C1O007.012 But to the rest speak I, not the Lord: If any brother hath a wife that believeth not, and she be pleased to dwell with him, let him not put her away. %%% Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe: w'oluganda yenna bw'abanga n'onukazi atakkiriza, omukazi bw'atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo. 46C1O007.013 And the woman which hath an husband that believeth not, and if he be pleased to dwell with her, let her not leave him. %%% N'omukazi bw'abeeranga n'omusajja atakkiriza; naye bw'atabagananga naye okubeera naye, tanobanga ku musajja we. 46C1O007.014 For the unbelieving husband is sanctified by the wife, and the unbelieving wife is sanctified by the husband: else were your children unclean; but now are they holy. %%% Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na wa luganda: singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu. 46C1O007.015 But if the unbelieving depart, let him depart. A brother or a sister is not under bondage in such cases: but God hath called us to peace. %%% Naye atakkiriza bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo: naye Katonda yatuyitira mirembe. 46C1O007.016 For what knowest thou, O wife, whether thou shalt save thy husband? or how knowest thou, O man, whether thou shalt save thy wife? %%% Kubanga, ggwe omukazi; omanyi otya nga tolirokola musajja wo? oba, ggwe musajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo? 46C1O007.017 But as God hath distributed to every man, as the Lord hath called every one, so let him walk. And so ordain I in all churches. %%% Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Era bwe ndagira bwe ntyo mu kkanisa zonna. 46C1O007.018 Is any man called being circumcised? let him not become uncircumcised. Is any called in uncircumcision? let him not be circumcised. %%% Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? teyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Takomolebwanga. 46C1O007.019 Circumcision is nothing, and uncircumcision is nothing, but the keeping of the commandments of God. %%% Okukomolwa si kintu n'obutakomolwa si kintu wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda. 46C1O007.020 Let every man abide in the same calling wherein he was called. %%% Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu. 46C1O007.021 Art thou called being a servant? care not for it: but if thou mayest be made free, use it rather. %%% Wayitibwa ng'oli muddu? tokyeraliikiriranga: naye okuyinza bw'oyinzaga okuweebwa eddembe, waakiri beerenga nalyo. 46C1O007.022 For he that is called in the Lord, being a servant, is the Lord's freeman: likewise also he that is called, being free, is Christ's servant. %%% Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwa nga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe: bw'atyo eyayitibwa nga wa ddembe ye muddu wa Kristo. 46C1O007.023 Ye are bought with a price; be not ye the servants of men. %%% Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu ba bantu. 46C1O007.024 Brethren, let every man, wherein he is called, therein abide with God. %%% Ab'oluganda, okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mu okwo wamu ne Katanda. 46C1O007.025 Now concerning virgins I have no commandment of the Lord: yet I give my judgment, as one that hath obtained mercy of the Lord to be faithful. %%% Naye ku by'obutafumbiriganwa sirina kiragiro kya Mukama waffe: naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa. 46C1O007.026 I suppose therefore that this is good for the present distress, I say, that it is good for a man so to be. %%% Kale ndowooza kino okubeera ekirungi olw'okubonaabona okwa kaakano, nga kirungi omuntu okubeera nga bw'ali. 46C1O007.027 Art thou bound unto a wife? seek not to be loosed. Art thou loosed from a wife? seek not a wife. %%% Wasibibwa n'omukazi? tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? tonoonyanga mukazi. 46C1O007.028 But and if thou marry, thou hast not sinned; and if a virgin marry, she hath not sinned. Nevertheless such shall have trouble in the flesh: but I spare you. %%% Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'okubonaabona mu mubiri: nange mbasaasira. 46C1O007.029 But this I say, brethren, the time is short: it remaineth, that both they that have wives be as though they had none; %%% Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okutanula kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina: 46C1O007.030 And they that weep, as though they wept not; and they that rejoice, as though they rejoiced not; and they that buy, as though they possessed not; %%% era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n’abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina; 46C1O007.031 And they that use this world, as not abusing it: for the fashion of this world passeth away. %%% n'abo abakoza eby'omu nsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo. 46C1O007.032 But I would have you without carefulness. He that is unmarried careth for the things that belong to the Lord, how he may please the Lord: %%% Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe: 46C1O007.033 But he that is married careth for the things that are of the world, how he may please his wife. %%% naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we. 46C1O007.034 There is difference also between a wife and a virgin. The unmarried woman careth for the things of the Lord, that she may be holy both in body and in spirit: but she that is married careth for the things of the world, how she may please her husband. %%% Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we. 46C1O007.035 And this I speak for your own profit; not that I may cast a snare upon you, but for that which is comely, and that ye may attend upon the Lord without distraction. %%% Njogedde ekyo olw'okubagasa mmwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga. 46C1O007.036 But if any man think that he behaveth himself uncomely toward his virgin, if she pass the flower of her age, and need so require, let him do what he will, he sinneth not: let them marry. %%% Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola bulungi muwala we, oba nga ayitiridde obukulu, era oba nga kigwana okubeera bwe kityo, akolenga nga bw'ayagala; tayonoona; bafumbiriganwe. 46C1O007.037 Nevertheless he that standeth stedfast in his heart, having no necessity, but hath power over his own will, and hath so decreed in his heart that he will keep his virgin, doeth well. %%% Naye oyo anywera mu mutima gwe, nga tawalirizibwa, naye ng'ayinza okutuukiriza bw'ayagala ye, era nga yamalirira kino mu mutima gwe okukuumanga muwala we, alikola bulungi. 46C1O007.038 So then he that giveth her in marriage doeth well; but he that giveth her not in marriage doeth better. %%% Kale afumbiza muwala we akola bulungi; era n'oyo atalifumbiza ye alisinga okukola obulungi. 46C1O007.039 The wife is bound by the law as long as her husband liveth; but if her husband be dead, she is at liberty to be married to whom she will; only in the Lord. %%% Omukazi asibibwa musajja we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe. 46C1O007.040 But she is happier if she so abide, after my judgment: and I think also that I have the Spirit of God. %%% Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda. 46C1O008.001 Now as touching things offered unto idols, we know that we all have knowledge. Knowledge puffeth up, but charity edifieth. %%% Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba. 46C1O008.002 And if any man think that he knoweth any thing, he knoweth nothing yet as he ought to know. %%% Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera; 46C1O008.003 But if any man love God, the same is known of him. %%% naye omuntu bw'ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye. 46C1O008.004 As concerning therefore the eating of those things that are offered in sacrifice unto idols, we know that an idol is nothing in the world, and that there is none other God but one. %%% Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi ng'ekifaananyi si kintu mu nsi, era nga tewali Katonda omulala wabula omu. 46C1O008.005 For though there be that are called gods, whether in heaven or in earth, (as there be gods many, and lords many,) %%% Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi; 46C1O008.006 But to us there is but one God, the Father, of whom are all things, and we in him; and one Lord Jesus Christ, by whom are all things, and we by him. %%% naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe: 46C1O008.007 Howbeit there is not in every man that knowledge: for some with conscience of the idol unto this hour eat it as a thing offered unto an idol; and their conscience being weak is defiled. %%% Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ng'ekiweereddwa eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubeera n'empitambi. 46C1O008.008 But meat commendeth us not to God: for neither, if we eat, are we the better; neither, if we eat not, are we the worse. %%% Naye ekyokulya tekitusiimisa eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongerako. 46C1O008.009 But take heed lest by any means this liberty of yours become a stumblingblock to them that are weak. %%% Naye mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abanafu. 46C1O008.010 For if any man see thee which hast knowledge sit at meat in the idol's temple, shall not the conscience of him which is weak be emboldened to eat those things which are offered to idols; %%% Kubanga omuntu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'aba nga munafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi? 46C1O008.011 And through thy knowledge shall the weak brother perish, for whom Christ died? %%% Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kwo, ow'oluganda Kristo gwe yafiirira. 46C1O008.012 But when ye sin so against the brethren, and wound their weak conscience, ye sin against Christ. %%% Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo. 46C1O008.013 Wherefore, if meat make my brother to offend, I will eat no flesh while the world standeth, lest I make my brother to offend. %%% Kale, oba ng'ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange. 46C1O009.001 Am I not an apostle? am I not free? have I not seen Jesus Christ our Lord? are not ye my work in the Lord? %%% Ssiri wa ddembe? ssiri mutume? ssaalaba Yesu Mukama waffe? mmwe temuli mulimu gwange mu Mukama waffe? 46C1O009.002 If I be not an apostle unto others, yet doubtless I am to you: for the seal of mine apostleship are ye in the Lord. %%% Oba nga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe: kubanga mmwe kabonero k'obutume bwange mu Mukama waffe. 46C1O009.003 Mine answer to them that do examine me is this, %%% Bwe mpoza bwe nti eri abo abankemereza. 46C1O009.004 Have we not power to eat and to drink? %%% Tetulina buyinza okulyanga n'okunywanga? 46C1O009.005 Have we not power to lead about a sister, a wife, as well as other apostles, and as the brethren of the Lord, and Cephas? %%% Tetulina buyinza okutwalanga omukazi ow'oluganda awamu naffe, era ng'abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe, ne Keefa. 46C1O009.006 Or I only and Barnabas, have not we power to forbear working? %%% Oba nze nzekka ne Balunabba tetulina buyinza obutakolanga mirimu? 46C1O009.007 Who goeth a warfare any time at his own charges? who planteth a vineyard, and eateth not of the fruit thereof? or who feedeth a flock, and eateth not of the milk of the flock? %%% Ani agenda okutabaala yonna yonna n'atabaaza ebintu bye ye? ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo? 46C1O009.008 Say I these things as a man? or saith not the law the same also? %%% Ebyo njogera bya buntu? oba era n'amateeka tegoogera bwe gatyo? 46C1O009.009 For it is written in the law of Moses, Thou shalt not muzzle the mouth of the ox that treadeth out the corn. Doth God take care for oxen? %%% Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti Togisibanga kamwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bya nte? 46C1O009.010 Or saith he it altogether for our sakes? For our sakes, no doubt, this is written: that he that ploweth should plow in hope; and that he that thresheth in hope should be partaker of his hope. %%% oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako. 46C1O009.011 If we have sown unto you spiritual things, is it a great thing if we shall reap your carnal things? %%% Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri? 46C1O009.012 If others be partakers of this power over you, are not we rather? Nevertheless we have not used this power; but suffer all things, lest we should hinder the gospel of Christ. %%% Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza byonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza enjiri ya Kristo. 46C1O009.013 Do ye not know that they which minister about holy things live of the things of the temple? and they which wait at the altar are partakers with the altar? %%% Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto? 46C1O009.014 Even so hath the Lord ordained that they which preach the gospel should live of the gospel. %%% Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri. 46C1O009.015 But I have used none of these things: neither have I written these things, that it should be so done unto me: for it were better for me to die, than that any man should make my glorying void. %%% Naye nze sibikozanga ebyo n'ekimu: so siwandiise ebyo kiryoke kinkolerwenga nze bwe kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere. 46C1O009.016 For though I preach the gospel, I have nothing to glory of: for necessity is laid upon me; yea, woe is unto me, if I preach not the gospel! %%% Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri. 46C1O009.017 For if I do this thing willingly, I have a reward: but if against my will, a dispensation of the gospel is committed unto me. %%% Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera: naye oba nga ssikola na kwagala, nnateresebwa obuwanika. 46C1O009.018 What is my reward then? Verily that, when I preach the gospel, I may make the gospel of Christ without charge, that I abuse not my power in the gospel. %%% Kale mpeera ki gye nnina? Mbuulira enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukoleza ddala obuyinza bwange mu njiri. 46C1O009.019 For though I be free from all men, yet have I made myself servant unto all, that I might gain the more. %%% Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi. 46C1O009.020 And unto the Jews I became as a Jew, that I might gain the Jews; to them that are under the law, as under the law, that I might gain them that are under the law; %%% N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka; 46C1O009.021 To them that are without law, as without law, (being not without law to God, but under the law to Christ,) that I might gain them that are without law. %%% eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka. 46C1O009.022 To the weak became I as weak, that I might gain the weak: I am made all things to all men, that I might by all means save some. %%% Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu. 46C1O009.023 And this I do for the gospel's sake, that I might be partaker thereof with you. %%% Era nkola byonna olw'enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo. 46C1O009.024 Know ye not that they which run in a race run all, but one receiveth the prize? So run, that ye may obtain. %%% Temumanyi ng'abadduka mu kuwakana baddukanira ddala bonna, naye aweebwako empeera omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe. 46C1O009.025 And every man that striveth for the mastery is temperate in all things. Now they do it to obtain a corruptible crown; but we an incorruptible. %%% Era buli muntu awakana yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo balyoke baweebwe engule eryonooneka, naye ffe etayonooneka. 46C1O009.026 I therefore so run, not as uncertainly; so fight I, not as one that beateth the air: %%% Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng'atamanyi; nnwana bwe nti si ng'akuba ebbanga: 46C1O009.027 But I keep under my body, and bring it into subjection: lest that by any means, when I have preached to others, I myself should be a castaway. %%% naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga maze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa. 46C1O010.001 Moreover, brethren, I would not that ye should be ignorant, how that all our fathers were under the cloud, and all passed through the sea; %%% Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja; 46C1O010.002 And were all baptized unto Moses in the cloud and in the sea; %%% era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja; 46C1O010.003 And did all eat the same spiritual meat; %%% era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo: 46C1O010.004 And did all drink the same spiritual drink: for they drank of that spiritual Rock that followed them: and that Rock was Christ. %%% kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo lwali Kristo. 46C1O010.005 But with many of them God was not well pleased: for they were overthrown in the wilderness. %%% Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima: kubanga baazikiririzibwa mu ddungu. 46C1O010.006 Now these things were our examples, to the intent we should not lust after evil things, as they also lusted. %%% Naye ebyo byali byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba. 46C1O010.007 Neither be ye idolaters, as were some of them; as it is written, The people sat down to eat and drink, and rose up to play. %%% So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya. 46C1O010.008 Neither let us commit fornication, as some of them committed, and fell in one day three and twenty thousand. %%% Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku lunaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu. 46C1O010.009 Neither let us tempt Christ, as some of them also tempted, and were destroyed of serpents. %%% Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta. 46C1O010.010 Neither murmur ye, as some of them also murmured, and were destroyed of the destroyer. %%% Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza. 46C1O010.011 Now all these things happened unto them for ensamples: and they are written for our admonition, upon whom the ends of the world are come. %%% Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe. 46C1O010.012 Wherefore let him that thinketh he standeth take heed lest he fall. %%% Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa. 46C1O010.013 There hath no temptation taken you but such as is common to man: but God is faithful, who will not suffer you to be tempted above that ye are able; but will with the temptation also make a way to escape, that ye may be able to bear it. %%% Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza. 46C1O010.014 Wherefore, my dearly beloved, flee from idolatry. %%% Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi. 46C1O010.015 I speak as to wise men; judge ye what I say. %%% Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera. 46C1O010.016 The cup of blessing which we bless, is it not the communion of the blood of Christ? The bread which we break, is it not the communion of the body of Christ? %%% Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo? 46C1O010.017 For we being many are one bread, and one body: for we are all partakers of that one bread. %%% kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu. 46C1O010.018 Behold Israel after the flesh: are not they which eat of the sacrifices partakers of the altar? %%% Mulabe Isiraeri ow'omubiri: abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto? 46C1O010.019 What say I then? that the idol is any thing, or that which is offered in sacrifice to idols is any thing? %%% Kale njogera ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu? 46C1O010.020 But I say, that the things which the Gentiles sacrifice, they sacrifice to devils, and not to God: and I would not that ye should have fellowship with devils. %%% Naye njogera ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda: nange ssaagala mmwe kubeeranga abasseekimu ne balubaale. 46C1O010.021 Ye cannot drink the cup of the Lord, and the cup of devils: ye cannot be partakers of the Lord's table, and of the table of devils. %%% Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale. 46C1O010.022 Do we provoke the Lord to jealousy? are we stronger than he? %%% Oba Mukama waffe tumukwasa obuggya? ffe tumusinga amaanyi? 46C1O010.023 All things are lawful for me, but all things are not expedient: all things are lawful for me, but all things edify not. %%% Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna. 46C1O010.024 Let no man seek his own, but every man another's wealth. %%% Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne. 46C1O010.025 Whatsoever is sold in the shambles, that eat, asking no question for conscience sake: %%% Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo; 46C1O010.026 For the earth is the Lord's, and the fulness thereof. %%% kubanga ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo. 46C1O010.027 If any of them that believe not bid you to a feast, and ye be disposed to go; whatsoever is set before you, eat, asking no question for conscience sake. %%% Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo. 46C1O010.028 But if any man say unto you, This is offered in sacrifice unto idols, eat not for his sake that shewed it, and for conscience sake: for the earth is the Lord's, and the fulness thereof: %%% Naye omuntu bw'abagambanga nti Kino kyaweebwa okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo abuulidde, n'olw'omwoyo: 46C1O010.029 Conscience, I say, not thine own, but of the other: for why is my liberty judged of another man's conscience? %%% bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala? 46C1O010.030 For if I by grace be a partaker, why am I evil spoken of for that for which I give thanks? %%% Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza? 46C1O010.031 Whether therefore ye eat, or drink, or whatsoever ye do, do all to the glory of God. %%% Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda. 46C1O010.032 Give none offence, neither to the Jews, nor to the Gentiles, nor to the church of God: %%% Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda: 46C1O010.033 Even as I please all men in all things, not seeking mine own profit, but the profit of many, that they may be saved. %%% era nga nange bwe sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi; balyoke balokoke. 46C1O011.001 Be ye followers of me, even as I also am of Christ. %%% Mungobererenga nze, nga nange bwe ngoberera Kristo. 46C1O011.002 Now I praise you, brethren, that ye remember me in all things, and keep the ordinances, as I delivered them to you. %%% Mbatendereza kubanga munjijukira mu byonna, era munyweza bye mwaweebwa nga bwe nnabibawa. 46C1O011.003 But I would have you know, that the head of every man is Christ; and the head of the woman is the man; and the head of Christ is God. %%% Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda. 46C1O011.004 Every man praying or prophesying, having his head covered, dishonoureth his head. %%% Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe. 46C1O011.005 But every woman that prayeth or prophesieth with her head uncovered dishonoureth her head: for that is even all one as if she were shaven. %%% Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza omutwe gwe: kubanga bwe bumu ddala ng'amwereddwa. 46C1O011.006 For if the woman be not covered, let her also be shorn: but if it be a shame for a woman to be shorn or shaven, let her be covered. %%% Kuba oba ng'omukazi tabikkibwako, era asalibwenga enviiri: naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwanga enviiri oba okumwebwanga, abikkibwengako. 46C1O011.007 For a man indeed ought not to cover his head, forasmuch as he is the image and glory of God: but the woman is the glory of the man. %%% Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkibwanga ku mutwe, kubanga oyo kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja. 46C1O011.008 For the man is not of the woman; but the woman of the man. %%% Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja: 46C1O011.009 Neither was the man created for the woman; but the woman for the man. %%% era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja: 46C1O011.010 For this cause ought the woman to have power on her head because of the angels. %%% kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika. 46C1O011.011 Nevertheless neither is the man without the woman, neither the woman without the man, in the Lord. %%% Era naye omukazi tabeerawo awatali musajja, era omusajja tabeerawo awatali mukazi, mu Mukama waffe. 46C1O011.012 For as the woman is of the man, even so is the man also by the woman; but all things of God. %%% Kuba omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda: 46C1O011.013 Judge in yourselves: is it comely that a woman pray unto God uncovered? %%% Musale omusango nammwe mwekka: kisaana omukazi asabenga Katonda nga tabikkiddwako? 46C1O011.014 Doth not even nature itself teach you, that, if a man have long hair, it is a shame unto him? %%% Obuzaaliranwa bwokka tebubayigiriza nga omusajja bw'akuza enviiri zimuswaza? 46C1O011.015 But if a woman have long hair, it is a glory to her: for her hair is given her for a covering. %%% Naye omukazi bw'akuza enviiri; kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo. 46C1O011.016 But if any man seem to be contentious, we have no such custom, neither the churches of God. %%% Naye omuntu yenna bw'aba ng'ayagala okuleeta empaka, ffe tetulina mpisa ng'eyo, newakubadde ekkanisa za Katonda. 46C1O011.017 Now in this that I declare unto you I praise you not, that ye come together not for the better, but for the worse. %%% Naye bwe mbalagira kino ssibatendereza, kubanga temukuŋŋaana lwa bulungi wabula olw'obubi. 46C1O011.018 For first of all, when ye come together in the church, I hear that there be divisions among you; and I partly believe it. %%% Kubanga eky'olubereberye, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe; era nkikkirizaamu. 46C1O011.019 For there must be also heresies among you, that they which are approved may be made manifest among you. %%% Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubanga mu mmwe, abasiimibwa balyoke balabikenga mu mmwe. 46C1O011.020 When ye come together therefore into one place, this is not to eat the Lord's supper. %%% Kale bwe mukuŋŋaanira awamu, tekiyinzika kulya mmere ya Mukama waffe: 46C1O011.021 For in eating every one taketh before other his own supper: and one is hungry, and another is drunken. %%% kubanga mu kulya kwammwe buli muntu asooka munne okutoola emmere ye yekka; n'omulala alumwa enjala, n'omulala atamiira. 46C1O011.022 What? have ye not houses to eat and to drink in? or despise ye the church of God, and shame them that have not? What shall I say to you? shall I praise you in this? I praise you not. %%% Kiki ekyo? temulina nnyumba za kuliirangamu n'okunywerangamu? oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina nnyumba? Nnaabagamba ntya? nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza. 46C1O011.023 For I have received of the Lord that which also I delivered unto you, That the Lord Jesus the same night in which he was betrayed took bread: %%% Kubanga nze nnaweebwa eri Mukama waffe era ekyo kye nnabawa mmwe, nga Mukama waffe Yesu mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati; 46C1O011.024 And when he had given thanks, he brake it, and said, Take, eat: this is my body, which is broken for you: this do in remembrance of me. %%% ne yeebaza, n'agumenyamu, n'ayogera nti Guno gwe mubiri gwange oguli ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo olw'okunjijukiranga nze. 46C1O011.025 After the same manner also he took the cup, when he had supped, saying, This cup is the new testament in my blood: this do ye, as oft as ye drink it, in remembrance of me. %%% Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya, ng'ayogera nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange: mukolenga bwe mutyo buli lwe munaanywangako, olw'okunjijukiranga nze. 46C1O011.026 For as often as ye eat this bread, and drink this cup, ye do shew the Lord's death till he come. %%% Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja. 46C1O011.027 Wherefore whosoever shall eat this bread, and drink this cup of the Lord, unworthily, shall be guilty of the body and blood of the Lord. %%% Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati aba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde. 46C1O011.028 But let a man examine himself, and so let him eat of that bread, and drink of that cup. %%% Naye omuntu yeekeberenga yekka alyoke alyenga ku mugaati bw'atyo, era anywenga ne ku kikompe. 46C1O011.029 For he that eateth and drinketh unworthily, eateth and drinketh damnation to himself, not discerning the Lord's body. %%% Kubanga alya era anywa, alya era anywa musango gwe ye, bw'atayawula mubiri. 46C1O011.030 For this cause many are weak and sickly among you, and many sleep. %%% Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu abangi abanafu n'abalwadde, era bangiko abeebaka: 46C1O011.031 For if we would judge ourselves, we should not be judged. %%% Naye singa twesalira omusango ffekka, tetwandisaliddwa musango. 46C1O011.032 But when we are judged, we are chastened of the Lord, that we should not be condemned with the world. %%% Naye bwe tusalirwa omusango, tubuulirirwa Mukama waffe, tsuleme okusingibwa omusango awamu n’ensi. 46C1O011.033 Wherefore, my brethren, when ye come together to eat, tarry one for another. %%% Kale, baganda bange, bwe mukuŋŋgaananga okulya, mulindaganenga. 46C1O011.034 And if any man hunger, let him eat at home; that ye come not together unto condemnation. And the rest will I set in order when I come. %%% Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eka; okukuŋŋaana kwammwe kulemenga okuba okw'ensobi. N'ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna. 46C1O012.001 Now concerning spiritual gifts, brethren, I would not have you ignorant. %%% Kale nno, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo ssaagala mmwe obutabitegeera. 46C1O012.002 Ye know that ye were Gentiles, carried away unto these dumb idols, even as ye were led. %%% Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitoogera, nga mukyamizibwa mu ngeri yonna. 46C1O012.003 Wherefore I give you to understand, that no man speaking by the Spirit of God calleth Jesus accursed: and that no man can say that Jesus is the Lord, but by the Holy Ghost. %%% Kyenva mbategeeza nga siwali muntu bw'ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu Mwoyo Omutukuvu. 46C1O012.004 Now there are diversities of gifts, but the same Spirit. %%% Naye waliwo enjawulo z'ebirabo, naye Omwoyo ali omu. 46C1O012.005 And there are differences of administrations, but the same Lord. %%% Era waliwo enjawulo z'okuweereza, era Mukama waffe ali omu. 46C1O012.006 And there are diversities of operations, but it is the same God which worketh all in all. %%% Era waliwo enjawulo z'okukola, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bonna. 46C1O012.007 But the manifestation of the Spirit is given to every man to profit withal. %%% Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasa. 46C1O012.008 For to one is given by the Spirit the word of wisdom; to another the word of knowledge by the same Spirit; %%% Kubanga omulala Omwoyo amuweesa ekigambo eky'amagezi; n'omulala aweebwa ekigambo eky'okutegeeranga, ku bw'Omwoyo oyo: 46C1O012.009 To another faith by the same Spirit; to another the gifts of healing by the same Spirit; %%% omulala okukkiriza, ku bw'Omwoyo oyo; n'omulala ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo omu; 46C1O012.010 To another the working of miracles; to another prophecy; to another discerning of spirits; to another divers kinds of tongues; to another the interpretation of tongues: %%% n’omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omulala engeri z'ennimi; n'omulala okuvvuunuzanga ennimi: 46C1O012.011 But all these worketh that one and the selfsame Spirit, dividing to every man severally as he will. %%% naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala. 46C1O012.012 For as the body is one, and hath many members, and all the members of that one body, being many, are one body: so also is Christ. %%% Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo. 46C1O012.013 For by one Spirit are we all baptized into one body, whether we be Jews or Gentiles, whether we be bond or free; and have been all made to drink into one Spirit. %%% Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu. 46C1O012.014 For the body is not one member, but many. %%% Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi. 46C1O012.015 If the foot shall say, Because I am not the hand, I am not of the body; is it therefore not of the body? %%% Ekigere bwe kyogera nti Kubanga siri mukono, siri wa ku mubiri; olwekyo tekibeera ekitali kya ku mubiri. 46C1O012.016 And if the ear shall say, Because I am not the eye, I am not of the body; is it therefore not of the body? %%% Era okutu bwe kwogera nti Kubanga siri liiso, siri wa ku mubiri; olwekyo tekubeera okutali kwa ku mubiri. 46C1O012.017 If the whole body were an eye, where were the hearing? If the whole were hearing, where were the smelling? %%% Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonna singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa? 46C1O012.018 But now hath God set the members every one of them in the body, as it hath pleased him. %%% Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri, nga bwe yayagala. 46C1O012.019 And if they were all one member, where were the body? %%% Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa? 46C1O012.020 But now are they many members, yet but one body. %%% Naye kaakano ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu. 46C1O012.021 And the eye cannot say unto the hand, I have no need of thee: nor again the head to the feet, I have no need of you. %%% N'eriiso teriyinza kugamba mukono nti Ggwe sikwetaaga: oba nate omutwe okugamba ebigere nti Mmwe sibeetaaga. 46C1O012.022 Nay, much more those members of the body, which seem to be more feeble, are necessary: %%% Naye, ekisinga ennyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa: 46C1O012.023 And those members of the body, which we think to be less honourable, upon these we bestow more abundant honour; and our uncomely parts have more abundant comeliness. %%% n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutaba na kitiibwa nnyo, bye twambaza ekitiibwa ekisinga obungi: n'ebitundu byaffe ebitali birungi bye bisinga okubeera n'obulungi; 46C1O012.024 For our comely parts have no need: but God hath tempered the body together, having given more abundant honour to that part which lacked: %%% naye ebirungi byaffe tebyetaaga: naye Katonda yagattira ddala wamu omubiri, ekitundu ekyabulako ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obungi; 46C1O012.025 That there should be no schism in the body; but that the members should have the same care one for another. %%% walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka. 46C1O012.026 And whether one member suffer, all the members suffer with it; or one member be honoured, all the members rejoice with it. %%% Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabanera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo. 46C1O012.027 Now ye are the body of Christ, and members in particular. %%% Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu. 46C1O012.028 And God hath set some in the church, first apostles, secondarily prophets, thirdly teachers, after that miracles, then gifts of healings, helps, governments, diversities of tongues. %%% Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi. 46C1O012.029 Are all apostles? are all prophets? are all teachers? are all workers of miracles? %%% Bonna batume? bonna bannabbi? bonna bayigiriza? bonna bakola eby'amagero? 46C1O012.030 Have all the gifts of healing? do all speak with tongues? do all interpret? %%% bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? bonna boogera ennimi? bonna baavvuunula? 46C1O012.031 But covet earnestly the best gifts: and yet shew I unto you a more excellent way. %%% Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era mbalaga ekkubo erisinga ennyo obulungi. 46C1O013.001 Though I speak with the tongues of men and of angels, and have not charity, I am become as sounding brass, or a tinkling cymbal. %%% Bwe njogera n'enaimi z'abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala. 46C1O013.002 And though I have the gift of prophecy, and understand all mysteries, and all knowledge; and though I have all faith, so that I could remove mountains, and have not charity, I am nothing. %%% Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo ne nzigyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. 46C1O013.003 And though I bestow all my goods to feed the poor, and though I give my body to be burned, and have not charity, it profiteth me nothing. %%% Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza. 46C1O013.004 Charity suffereth long, and is kind; charity envieth not; charity vaunteth not itself, is not puffed up, %%% Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza 46C1O013.005 Doth not behave itself unseemly, seeketh not her own, is not easily provoked, thinketh no evil; %%% tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; 46C1O013.006 Rejoiceth not in iniquity, but rejoiceth in the truth; %%% tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; 46C1O013.007 Beareth all things, believeth all things, hopeth all things, endureth all things. %%% kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. 46C1O013.008 Charity never faileth: but whether there be prophecies, they shall fail; whether there be tongues, they shall cease; whether there be knowledge, it shall vanish away. %%% Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo. 46C1O013.009 For we know in part, and we prophesy in part. %%% Kubanga tutegeerako kitundu, era tulagulako kitundu: 46C1O013.010 But when that which is perfect is come, then that which is in part shall be done away. %%% naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo. 46C1O013.011 When I was a child, I spake as a child, I understood as a child, I thought as a child: but when I became a man, I put away childish things. %%% Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto. 46C1O013.012 For now we see through a glass, darkly; but then face to face: now I know in part; but then shall I know even as also I am known. %%% Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala. 46C1O013.013 And now abideth faith, hope, charity, these three; but the greatest of these is charity. %%% Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala. 46C1O014.001 Follow after charity, and desire spiritual gifts, but rather that ye may prophesy. %%% Mugobererenga okwagala; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga. 46C1O014.002 For he that speaketh in an unknown tongue speaketh not unto men, but unto God: for no man understandeth him; howbeit in the spirit he speaketh mysteries. %%% Kubanga ayogera olulimi tayogera eri bantu, wabula Katonda; kubanga siwali awulira; naye mu mwoyo ayogera byama. 46C1O014.003 But he that prophesieth speaketh unto men to edification, and exhortation, and comfort. %%% Naye abuulira ayogera eri abantu ebizimba, n'ebisanyusa, n'ebigumya. 46C1O014.004 He that speaketh in an unknown tongue edifieth himself; but he that prophesieth edifieth the church. %%% Ayogera olulimi yeezimba yekka; naye abuulira azimba ekkanisa. 46C1O014.005 I would that ye all spake with tongues, but rather that ye prophesied: for greater is he that prophesieth than he that speaketh with tongues, except he interpret, that the church may receive edifying. %%% Kale mbaagala mwenna mwogerenga ennimi, naye waakiri mubuulirenga: era abuulira ye asinga obukulu ayogera ennimi, wabula ng'ategeeza, ekkanisa eryoke ezimbibwe. 46C1O014.006 Now, brethren, if I come unto you speaking with tongues, what shall I profit you, except I shall speak to you either by revelation, or by knowledge, or by prophesying, or by doctrine? %%% Naye kaakano, ab'oluganda, oba nga ndijja gye muli nga njogera ennimi, ndibagasa ntya; bwe ssiryogera nammwe oba mu kubikkula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kuyigiriza? 46C1O014.007 And even things without life giving sound, whether pipe or harp, except they give a distinction in the sounds, how shall it be known what is piped or harped? %%% Era n'ebitali biramu, ebireeta, eddoboozi; oba ndere, oba nnanga, bwe bitaleeta kwawula mu kuvuga, kitegeerwa kitya ekifuuyibwa oba ekikubibwa? 46C1O014.008 For if the trumpet give an uncertain sound, who shall prepare himself to the battle? %%% Kubanga n'akagombe bwe kavuga eddoboozi eritategeerekeka, ani alyeteekateeka okulwana? 46C1O014.009 So likewise ye, except ye utter by the tongue words easy to be understood, how shall it be known what is spoken? for ye shall speak into the air. %%% Bwe mutyo nammwe bwe mutaaleetenga mu lulimi eddoboozi eriwulikika amangu, ekyogerwa kinaategeerwanga kitya? kubanga mulyogerera mu bbanga. 46C1O014.010 There are, it may be, so many kinds of voices in the world, and none of them is without signification. %%% Mpozzi waliwo mu nsi engeri z'ennimi bwe ziti, so siwali ngeri eterina makulu. 46C1O014.011 Therefore if I know not the meaning of the voice, I shall be unto him that speaketh a barbarian, and he that speaketh shall be a barbarian unto me. %%% Kale bwe ssimanya makulu ga ddoboozi, ndibeera ng'ajoboja eri oyo ayogera, n'oyo ayogera alibeera ng'ajoboja eri nze. 46C1O014.012 Even so ye, forasmuch as ye are zealous of spiritual gifts, seek that ye may excel to the edifying of the church. %%% Bwe mutyo nammwe, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mwagalenga okweyongera olw'okuzimba ekkanisa. 46C1O014.013 Wherefore let him that speaketh in an unknown tongue pray that he may interpret. %%% Kale ayogera olulimi asabenga ategeezenga. 46C1O014.014 For if I pray in an unknown tongue, my spirit prayeth, but my understanding is unfruitful. %%% Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala. 46C1O014.015 What is it then? I will pray with the spirit, and I will pray with the understanding also: I will sing with the spirit, and I will sing with the understanding also. %%% Kale kiki? nnaasabyanga omwoyo, era nnaasabyanga n'amagezi, nnaayimbyanga mwoyo, era nnaayimbyanga n'amagezi. 46C1O014.016 Else when thou shalt bless with the spirit, how shall he that occupieth the room of the unlearned say Amen at thy giving of thanks, seeing he understandeth not what thou sayest? %%% Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abeera mu kifo ky'oyo atamanyi anaddangamu atya nti Amiina olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde? 46C1O014.017 For thou verily givest thanks well, but the other is not edified. %%% Kubanga ggwe weebaza bulungi, naye omulala tazimbibwa. 46C1O014.018 I thank my God, I speak with tongues more than ye all: %%% Nneebaza Katonda, mbasinga mwenna okwoera ennimi; 46C1O014.019 Yet in the church I had rather speak five words with my understanding, that by my voice I might teach others also, than ten thousand words in an unknown tongue. %%% naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaano n'amagezi gange, ndyoke njigirizenga n'abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi obulimi. 46C1O014.020 Brethren, be not children in understanding: howbeit in malice be ye children, but in understanding be men. %%% Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu. 46C1O014.021 In the law it is written, With men of other tongues and other lips will I speak unto this people; and yet for all that will they not hear me, saith the LORD. %%% Kyawandiikibwa mu mateeka nti Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannaggwanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama. 46C1O014.022 Wherefore tongues are for a sign, not to them that believe, but to them that believe not: but prophesying serveth not for them that believe not, but for them which believe. %%% Ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza: naye okubuulira tekubeera kabonero eri abatakkiriza wabula eri abakkiriza. 46C1O014.023 If therefore the whole church be come together into one place, and all speak with tongues, and there come in those that are unlearned, or unbelievers, will they not say that ye are mad? %%% Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira abatamanyi oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse? 46C1O014.024 But if all prophesy, and there come in one that believeth not, or one unlearned, he is convinced of all, he is judged of all: %%% Naye bona bwe babuulira, ne wayingira atakkiriza oba atamanyi, anenyezebwa bonna, asalirwa bonna omusango; 46C1O014.025 And thus are the secrets of his heart made manifest; and so falling down on his face he will worship God, and report that God is in you of a truth. %%% ebyama eby'omu mutima gwe birabisibwa; era bw'atyo alivuunama amaaso, n'asinza Katonda, ng'ayogera nga Katonda ali mu mmwe ddala. 46C1O014.026 How is it then, brethren? when ye come together, every one of you hath a psalm, hath a doctrine, hath a tongue, hath a revelation, hath an interpretation. Let all things be done unto edifying. %%% Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba. 46C1O014.027 If any man speak in an unknown tongue, let it be by two, or at the most by three, and that by course; and let one interpret. %%% Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga: 46C1O014.028 But if there be no interpreter, let him keep silence in the church; and let him speak to himself, and to God. %%% naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye era ne Katonda. 46C1O014.029 Let the prophets speak two or three, and let the other judge. %%% Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, n'abalala baawulenga. 46C1O014.030 If any thing be revealed to another that sitteth by, let the first hold his peace. %%% Naye omulala atudde bw'abikkulirwanga, eyasoose asirikenga. 46C1O014.031 For ye may all prophesy one by one, that all may learn, and all may be comforted. %%% Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga; 46C1O014.032 And the spirits of the prophets are subject to the prophets. %%% n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi; 46C1O014.033 For God is not the author of confusion, but of peace, as in all churches of the saints. %%% kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu. 46C1O014.034 Let your women keep silence in the churches: for it is not permitted unto them to speak; but they are commanded to be under obedience, as also saith the law. %%% Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera. 46C1O014.035 And if they will learn any thing, let them ask their husbands at home: for it is a shame for women to speak in the church. %%% Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa. 46C1O014.036 What? came the word of God out from you? or came it unto you only? %%% Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyava? oba kyatuuka eri mmwe mwekka? 46C1O014.037 If any man think himself to be a prophet, or spiritual, let him acknowledge that the things that I write unto you are the commandments of the Lord. %%% Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe. 46C1O014.038 But if any man be ignorant, let him be ignorant. %%% Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera. 46C1O014.039 Wherefore, brethren, covet to prophesy, and forbid not to speak with tongues. %%% Kale baganda bange, mwegombenga okubuuliranga, so temuziyizanga kwogeranga nnimi. 46C1O014.040 Let all things be done decently and in order. %%% Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi. 46C1O015.001 Moreover, brethren, I declare unto you the gospel which I preached unto you, which also ye have received, and wherein ye stand; %%% Kale mbategeeza, ab'oluganda, enjiri gye nnababuulira, era gye mwaweebwa, era gye munywereramu, 46C1O015.002 By which also ye are saved, if ye keep in memory what I preached unto you, unless ye have believed in vain. %%% era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere. 46C1O015.003 For I delivered unto you first of all that which I also received, how that Christ died for our sins according to the scriptures; %%% Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; 46C1O015.004 And that he was buried, and that he rose again the third day according to the scriptures: %%% era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; 46C1O015.005 And that he was seen of Cephas, then of the twelve: %%% era nga yalabikira Keefa; n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri; 46C1O015.006 After that, he was seen of above five hundred brethren at once; of whom the greater part remain unto this present, but some are fallen asleep. %%% n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka; 46C1O015.007 After that, he was seen of James; then of all the apostles. %%% n'alyoka alabikira Yakobo; n'alyoka alabikira abatume bonna; 46C1O015.008 And last of all he was seen of me also, as of one born out of due time. %%% era oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole. 46C1O015.009 For I am the least of the apostles, that am not meet to be called an apostle, because I persecuted the church of God. %%% Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda. 46C1O015.010 But by the grace of God I am what I am: and his grace which was bestowed upon me was not in vain; but I laboured more abundantly than they all: yet not I, but the grace of God which was with me. %%% Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange. 46C1O015.011 Therefore whether it were I or they, so we preach, and so ye believed. %%% Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza. 46C1O015.012 Now if Christ be preached that he rose from the dead, how say some among you that there is no resurrection of the dead? %%% Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu? 46C1O015.013 But if there be no resurrection of the dead, then is Christ not risen: %%% Naye oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa; 46C1O015.014 And if Christ be not risen, then is our preaching vain, and your faith is also vain. %%% era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu. 46C1O015.015 Yea, and we are found false witnesses of God; because we have testified of God that he raised up Christ: whom he raised not up, if so be that the dead rise not. %%% Era naye tulabika ng'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo: gw'ataazuukiza, oba ng'abafu tebazuukizibwa. 46C1O015.016 For if the dead rise not, then is not Christ raised: %%% Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa: 46C1O015.017 And if Christ be not raised, your faith is vain; ye are yet in your sins. %%% era oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe. 46C1O015.018 Then they also which are fallen asleep in Christ are perished. %%% Kale era n'abo abeebaka mu Kristo baabula. 46C1O015.019 If in this life only we have hope in Christ, we are of all men most miserable. %%% Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna. 46C1O015.020 But now is Christ risen from the dead, and become the firstfruits of them that slept. %%% Naye kaakano Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw'abo abeebaka. 46C1O015.021 For since by man came death, by man came also the resurrection of the dead. %%% Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu. 46C1O015.022 For as in Adam all die, even so in Christ shall all be made alive. %%% Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu. 46C1O015.023 But every man in his own order: Christ the firstfruits; afterward they that are Christ's at his coming. %%% Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe. 46C1O015.024 Then cometh the end, when he shall have delivered up the kingdom to God, even the Father; when he shall have put down all rule and all authority and power. %%% Enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza. 46C1O015.025 For he must reign, till he hath put all enemies under his feet. %%% Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye. 46C1O015.026 The last enemy that shall be destroyed is death. %%% Omulabe ow'enkomerero aliggibwawo, kwe kufa. 46C1O015.027 For he hath put all things under his feet. But when he saith all things are put under him, it is manifest that he is excepted, which did put all things under him. %%% Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w'ebigere bye. Naye bw'ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we. 46C1O015.028 And when all things shall be subdued unto him, then shall the Son also himself be subject unto him that put all things under him, that God may be all in all. %%% Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna. 46C1O015.029 Else what shall they do which are baptized for the dead, if the dead rise not at all? why are they then baptized for the dead? %%% Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo? 46C1O015.030 And why stand we in jeopardy every hour? %%% Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera? 46C1O015.031 I protest by your rejoicing which I have in Christ Jesus our LORD, I die daily. %%% Nfa bulijjo, ndayidde okwenyumiriza okwo ku lwammwe, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe. 46C1O015.032 If after the manner of men I have fought with beasts at Ephesus, what advantageth it me, if the dead rise not? let us eat and drink; for to morrow we die. %%% Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa, tulye tunywe, kubanga tufa enkya. 46C1O015.033 Be not deceived: evil communications corrupt good manners. %%% Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi. 46C1O015.034 Awake to righteousness, and sin not; for some have not the knowledge of God: I speak this to your shame. %%% Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda: njogedde kubakwasa nsonyi. 46C1O015.035 But some man will say, How are the dead raised up? and with what body do they come? %%% Naye omuntu alyogera nti Abafu bazuukizibwa batya? era mubiri ki gwe bajja nagwo? 46C1O015.036 Thou fool, that which thou sowest is not quickened, except it die: %%% Musirusiru ggwe, gy'osiga teba nnamu wabula ng'efa: 46C1O015.037 And that which thou sowest, thou sowest not that body that shall be, but bare grain, it may chance of wheat, or of some other grain: %%% ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala; 46C1O015.038 But God giveth it a body as it hath pleased him, and to every seed his own body. %%% naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka. 46C1O015.039 All flesh is not the same flesh: but there is one kind of flesh of men, another flesh of beasts, another of fishes, and another of birds. %%% Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja. 46C1O015.040 There are also celestial bodies, and bodies terrestrial: but the glory of the celestial is one, and the glory of the terrestrial is another. %%% Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala. 46C1O015.041 There is one glory of the sun, and another glory of the moon, and another glory of the stars: for one star differeth from another star in glory. %%% Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala: kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa. 46C1O015.042 So also is the resurrection of the dead. It is sown in corruption; it is raised in incorruption: %%% Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda: 46C1O015.043 It is sown in dishonour; it is raised in glory: it is sown in weakness; it is raised in power: %%% gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi: 46C1O015.044 It is sown a natural body; it is raised a spiritual body. There is a natural body, and there is a spiritual body. %%% gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo. 46C1O015.045 And so it is written, The first man Adam was made a living soul; the last Adam was made a quickening spirit. %%% Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu. 46C1O015.046 Howbeit that was not first which is spiritual, but that which is natural; and afterward that which is spiritual. %%% Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo. 46C1O015.047 The first man is of the earth, earthy: the second man is the Lord from heaven. %%% Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka: omuntu ow'okubiri yava mu ggulu. 46C1O015.048 As is the earthy, such are they also that are earthy: and as is the heavenly, such are they also that are heavenly. %%% Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bali bwe batyo: era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali; era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo. 46C1O015.049 And as we have borne the image of the earthy, we shall also bear the image of the heavenly. %%% Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu. 46C1O015.050 Now this I say, brethren, that flesh and blood cannot inherit the kingdom of God; neither doth corruption inherit incorruption. %%% Naye kino kye njogera, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda so okuvunda tekusikira butavunda. 46C1O015.051 Behold, I shew you a mystery; We shall not all sleep, but we shall all be changed, %%% Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, 46C1O015.052 In a moment, in the twinkling of an eye, at the last trump: for the trumpet shall sound, and the dead shall be raised incorruptible, and we shall be changed. %%% mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. 46C1O015.053 For this corruptible must put on incorruption, and this mortal must put on immortality. %%% Kubanga oguvunda guno, kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa. 46C1O015.054 So when this corruptible shall have put on incorruption, and this mortal shall have put on immortality, then shall be brought to pass the saying that is written, Death is swallowed up in victory. %%% Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula. 46C1O015.055 O death, where is thy sting? O grave, where is thy victory? %%% Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa? 46C1O015.056 The sting of death is sin; and the strength of sin is the law. %%% Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka: 46C1O015.057 But thanks be to God, which giveth us the victory through our Lord Jesus Christ. %%% naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. 46C1O015.058 Therefore, my beloved brethren, be ye stedfast, unmoveable, always abounding in the work of the Lord, forasmuch as ye know that your labour is not in vain in the Lord. %%% Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe. 46C1O016.001 Now concerning the collection for the saints, as I have given order to the churches of Galatia, even so do ye. %%% Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo. 46C1O016.002 Upon the first day of the week let every one of you lay by him in store, as God hath prospered him, that there be no gatherings when I come. %%% Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja. 46C1O016.003 And when I come, whomsoever ye shall approve by your letters, them will I send to bring your liberality unto Jerusalem. %%% Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi: 46C1O016.004 And if it be meet that I go also, they shall go with me. %%% era oba nga kirinsaanira nange okugenda, baligenda nange. 46C1O016.005 Now I will come unto you, when I shall pass through Macedonia: for I do pass through Macedonia. %%% Naye ndijja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ndiyita mu Makedoni: 46C1O016.006 And it may be that I will abide, yea, and winter with you, that ye may bring me on my journey whithersoever I go. %%% naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna. 46C1O016.007 For I will not see you now by the way; but I trust to tarry a while with you, if the Lord permit. %%% Kubanga ssaagala kubalaba kaakano nga mpita buyisi: kubanga nsuubira okulwayo katono gye muli, Mukama waffe bw'alikkiriza. 46C1O016.008 But I will tarry at Ephesus until Pentecost. %%% Naye ndirwayo mu Efeso okutuusa ku Pentekoote; 46C1O016.009 For a great door and effectual is opened unto me, and there are many adversaries. %%% kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era abalabe bangi. 46C1O016.010 Now if Timotheus come, see that he may be with you without fear: for he worketh the work of the Lord, as I also do. %%% Naye oba nga Timoseewo alijja, mulabe abeerenga gye muli awatali kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze: 46C1O016.011 Let no man therefore despise him: but conduct him forth in peace, that he may come unto me: for I look for him with the brethren. %%% kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda. 46C1O016.012 As touching our brother Apollos, I greatly desired him to come unto you with the brethren: but his will was not at all to come at this time; but he will come when he shall have convenient time. %%% Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga. 46C1O016.013 Watch ye, stand fast in the faith, quit you like men, be strong. %%% Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi. 46C1O016.014 Let all your things be done with charity. %%% Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala. 46C1O016.015 I beseech you, brethren, (ye know the house of Stephanas, that it is the firstfruits of Achaia, and that they have addicted themselves to the ministry of the saints,) %%% Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu), 46C1O016.016 That ye submit yourselves unto such, and to every one that helpeth with us, and laboureth. %%% nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naffe afuba. 46C1O016.017 I am glad of the coming of Stephanas and Fortunatus and Achaicus: for that which was lacking on your part they have supplied. %%% Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza. 46C1O016.018 For they have refreshed my spirit and yours: therefore acknowledge ye them that are such. %%% Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe: kale mukkirizenga abali ng'abo. 46C1O016.019 The churches of Asia salute you. Aquila and Priscilla salute you much in the Lord, with the church that is in their house. %%% Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe. 46C1O016.020 All the brethren greet you. Greet ye one another with an holy kiss. %%% Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. 46C1O016.021 The salutation of me Paul with mine own hand. %%% Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange. 46C1O016.022 If any man love not the Lord Jesus Christ, let him be Anathema Maranatha. %%% Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja. 46C1O016.023 The grace of our Lord Jesus Christ be with you. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe. 46C1O016.024 My love be with you all in Christ Jesus. Amen. %%% Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina. 47C2O001.001 Paul, an apostle of Jesus Christ by the will of God, and Timothy our brother, unto the church of God which is at Corinth, with all the saints which are in all Achaia: %%% Paulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, awamu n'abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna: 47C2O001.002 Grace be to you and peace from God our Father, and from the Lord Jesus Christ. %%% ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 47C2O001.003 Blessed be God, even the Father of our Lord Jesus Christ, the Father of mercies, and the God of all comfort; %%% Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna; 47C2O001.004 Who comforteth us in all our tribulation, that we may be able to comfort them which are in any trouble, by the comfort wherewith we ourselves are comforted of God. %%% atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda. 47C2O001.005 For as the sufferings of Christ abound in us, so our consolation also aboundeth by Christ. %%% Kuba ebibonyoobonyo bya Kristo nga bwe byeyongera ennyo gye tuli, era bwe kutyo n'okusanyusibwa kwaffe kweyongera nnyo ku bwa Kristo. 47C2O001.006 And whether we be afflicted, it is for your consolation and salvation, which is effectual in the enduring of the same sufferings which we also suffer: or whether we be comforted, it is for your consolation and salvation. %%% Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusanyusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebibonyoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa: 47C2O001.007 And our hope of you is stedfast, knowing, that as ye are partakers of the sufferings, so shall ye be also of the consolation. %%% era okusuubira kwaffe kunywera eri mmwe; nga tumanyi nti nga bwe mussa ekimu mu bibonyoobonyo, era bwe mutyo musse ekimu ne mu kusanyusibwa. 47C2O001.008 For we would not, brethren, have you ignorant of our trouble which came to us in Asia, that we were pressed out of measure, above strength, insomuch that we despaired even of life: %%% Kubanga tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaffe okwatubaako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu: 47C2O001.009 But we had the sentence of death in ourselves, that we should not trust in ourselves, but in God which raiseth the dead: %%% era ffe bennyini twalimu okuddamu okw'okufa munda mu ffe, tuleme obwesige okubuteeka mu ffe fekka, wabula Katonda azuukiza abafu: 47C2O001.010 Who delivered us from so great a death, and doth deliver: in whom we trust that he will yet deliver us; %%% eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga: era gwe tusuubira edda alituwonya; 47C2O001.011 Ye also helping together by prayer for us, that for the gift bestowed upon us by the means of many persons thanks may be given by many on our behalf. %%% era mmwe bwe mubeera awamu ku lwaffe mu kusaba; bwe tulimala okuweebwa ekirabo olw'abantu abangi, abangi balyoke beebaze ku lwaffe. 47C2O001.012 For our rejoicing is this, the testimony of our conscience, that in simplicity and godly sincerity, not with fleshly wisdom, but by the grace of God, we have had our conversation in the world, and more abundantly to you-ward. %%% Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, okutegeeza okw'omwoyo gwaffe, nga mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda, bwe twatambulanga mu nsi era okusinga ennyo eri mmwe. 47C2O001.013 For we write none other things unto you, than what ye read or acknowledge; and I trust ye shall acknowledge even to the end; %%% Kubanga tetubawandiikira birala wabula ebyo bye musoma era n'okwatula bye mwatula, era nsuubira nga munaabyatulanga okutuusa enkomerero: 47C2O001.014 As also ye have acknowledged us in part, that we are your rejoicing, even as ye also are ours in the day of the Lord Jesus. %%% nga n'okwatula bwe mwatwatulako akatono, nti ffe tuli kwenyumiriza kwammwe, era nga nammwe bwe muli gye tuli, ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 47C2O001.015 And in this confidence I was minded to come unto you before, that ye might have a second benefit; %%% Ne mu kusuubira kuno nnali njagala okujja gye muli edda, mulyoke muweebwe ekisa olw'okubiri; 47C2O001.016 And to pass by you into Macedonia, and to come again out of Macedonia unto you, and of you to be brought on my way toward Judaea. %%% n'okuyita gye muli okugenda e Makedoni, n'okuva nate e Makedoni okujja gye muli, n'okusibirirwa mmwe okugenda e Buyudaaya. 47C2O001.017 When I therefore was thus minded, did I use lightness? or the things that I purpose, do I purpose according to the flesh, that with me there should be yea yea, and nay nay? %%% Kale bwe nnali njagala bwe ntyo, nnalagaalaganya? oba bye nteesa, mbiteesa kugoberera mubiri, nze okuba n'ebyo nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo? 47C2O001.018 But as God is true, our word toward you was not yea and nay. %%% Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe ekiri eri mmwe si bwe kiti nti weewaawo ate nti si weewaawo. 47C2O001.019 For the Son of God, Jesus Christ, who was preached among you by us, even by me and Silvanus and Timotheus, was not yea and nay, but in him was yea. %%% Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye mwe muli weewaawo. 47C2O001.020 For all the promises of God in him are yea, and in him Amen, unto the glory of God by us. %%% Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo: era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe. 47C2O001.021 Now he which stablisheth us with you in Christ, and hath anointed us, is God; %%% Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda; 47C2O001.022 Who hath also sealed us, and given the earnest of the Spirit in our hearts. %%% era eyatussaako akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mitima gyaffe. 47C2O001.023 Moreover I call God for a record upon my soul, that to spare you I came not as yet unto Corinth. %%% Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, nga kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira. 47C2O001.024 Not for that we have dominion over your faith, but are helpers of your joy: for by faith ye stand. %%% Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab'essanyu lyammwe: kubanga okukkiriza kwe kubayimiriza. 47C2O002.001 But I determined this with myself, that I would not come again to you in heaviness. %%% Naye kino nnakimalirira mu mwoyo gwange, obutajja nate na nnaku gye muli. 47C2O002.002 For if I make you sorry, who is he then that maketh me glad, but the same which is made sorry by me? %%% Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza? 47C2O002.003 And I wrote this same unto you, lest, when I came, I should have sorrow from them of whom I ought to rejoice; having confidence in you all, that my joy is the joy of you all. %%% N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja abo baleme okunnakuwaza abagwanira okunsanyusa; kubanga nneesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna. 47C2O002.004 For out of much affliction and anguish of heart I wrote unto you with many tears; not that ye should be grieved, but that ye might know the love which I have more abundantly unto you. %%% Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa ku banakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina eri mmwe bwe kuli okungi enyo: 47C2O002.005 But if any have caused grief, he hath not grieved me, but in part: that I may not overcharge you all. %%% Naye omuntu bw'aba annakuwazizza, aba tannakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okuzitowa ennyo. 47C2O002.006 Sufficient to such a man is this punishment, which was inflicted of many. %%% Kunaamumala ali bw'atyo okubonerezebwa okwo okw'abangi; 47C2O002.007 So that contrariwise ye ought rather to forgive him, and comfort him, lest perhaps such a one should be swallowed up with overmuch sorrow. %%% kyekivudde kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa, afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi. 47C2O002.008 Wherefore I beseech you that ye would confirm your love toward him. %%% Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala eri oyo. 47C2O002.009 For to this end also did I write, that I might know the proof of you, whether ye be obedient in all things. %%% Kubanga era kyennava mpandiika; ndyoke ntegeere okukemebwa kwammwe, oba nga muwulira mu bigambo byonna. 47C2O002.010 To whom ye forgive any thing, I forgive also: for if I forgave any thing, to whom I forgave it, for your sakes forgave I it in the person of Christ; %%% Naye gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo; 47C2O002.011 Lest Satan should get an advantage of us: for we are not ignorant of his devices. %%% Setaani alemenga kutwekulumbalizaako: kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze. 47C2O002.012 Furthermore, when I came to Troas to preach Christ's gospel, and a door was opened unto me of the Lord, %%% Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe, 47C2O002.013 I had no rest in my spirit, because I found not Titus my brother: but taking my leave of them, I went from thence into Macedonia. %%% ssaalaba kuwummula mu mwoyo gwange, olw'obutasanga Tito muganda wange: naye ne mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni. 47C2O002.014 Now thanks be unto God, which always causeth us to triumph in Christ, and maketh manifest the savour of his knowledge by us in every place. %%% Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangula mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo. 47C2O002.015 For we are unto God a sweet savour of Christ, in them that are saved, and in them that perish: %%% Kubanga tuli vvumbe ddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu bo ababula; 47C2O002.016 To the one we are the savour of death unto death; and to the other the savour of life unto life. And who is sufficient for these things? %%% eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri bali tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza? 47C2O002.017 For we are not as many, which corrupt the word of God: but as of sincerity, but as of God, in the sight of God speak we in Christ. %%% Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda; naye olw'amazima, naye olwa Katonda, mu maaso ga Katonda, bwe tutyo bwe twogera mu Kristo. 47C2O003.001 Do we begin again to commend ourselves? or need we, as some others, epistles of commendation to you, or letters of commendation from you? %%% Tutanula nate okwetendereza fekka? oba twetaaga ebbaluwa, ng'abalala, ez'okutendereza eri mmwe, oba eziva gye muli? 47C2O003.002 Ye are our epistle written in our hearts, known and read of all men: %%% Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, gye basoma; 47C2O003.003 Forasmuch as ye are manifestly declared to be the epistle of Christ ministered by us, written not with ink, but with the Spirit of the living God; not in tables of stone, but in fleshy tables of the heart. %%% nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande gye mitima egy'omubiri. 47C2O003.004 And such trust have we through Christ to God-ward: %%% Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo: 47C2O003.005 Not that we are sufficient of ourselves to think any thing as of ourselves; but our sufficiency is of God; %%% si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda; 47C2O003.006 Who also hath made us able ministers of the new testament; not of the letter, but of the spirit: for the letter killeth, but the spirit giveth life. %%% era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga ennukuta etta; naye omwoyo guleeta obulamu. 47C2O003.007 But if the ministration of death, written and engraven in stones, was glorious, so that the children of Israel could not stedfastly behold the face of Moses for the glory of his countenance; which glory was to be done away: %%% Naye oba nga okuweereza okw’okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaaso ge; ekyali kigenda akuggwaawo: 47C2O003.008 How shall not the ministration of the spirit be rather glorious? %%% okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kuba na kitiibwa? 47C2O003.009 For if the ministration of condemnation be glory, much more doth the ministration of righteousness \exceed in glory. %%% Kuba oba ng’okuweereza okw'omusango kye kitiibwa, okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza ekitiibwa. 47C2O003.010 For even that which was made glorious had no glory in this respect, by reason of the glory that excelleth. %%% Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiwebwa mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo. 47C2O003.011 For if that which is done away was glorious, much more that which remaineth is glorious. %%% Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga ennyo okuba n’ekitiibwa. 47C2O003.012 Seeing then that we have such hope, we use great plainness of speech: %%% Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi 47C2O003.013 And not as Moses, which put a vail over his face, that the children of Israel could not stedfastly look to the end of that which is abolished: %%% so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo: 47C2O003.014 But their minds were blinded: for until this day remaineth the same vail untaken away in the reading of the old testament; which vail is done away in Christ. %%% naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo. 47C2O003.015 But even unto this day, when Moses is read, the vail is upon their heart. %%% Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe. 47C2O003.016 Nevertheless when it shall turn to the Lord, the vail shall be taken away. %%% Naye bwe gukyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo. 47C2O003.017 Now the Lord is that Spirit: and where the Spirit of the Lord is, there is liberty. %%% Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe. 47C2O003.018 But we all, with open face beholding as in a glass the glory of the Lord, are changed into the same image from glory to glory, even as by the Spirit of the LORD. %%% Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo. 47C2O004.001 Therefore seeing we have this ministry, as we have received mercy, we faint not; %%% Kale, kubanga tulina okuweereza okwo, nga bwe twasaasirwa, tetuddirira: 47C2O004.002 But have renounced the hidden things of dishonesty, not walking in craftiness, nor handling the word of God deceitfully; but by manifestation of the truth commending ourselves to every man's conscience in the sight of God. %%% naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda. 47C2O004.003 But if our gospel be hid, it is hid to them that are lost: %%% Naye okubikkibwako oba ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula: 47C2O004.004 In whom the god of this world hath blinded the minds of them which believe not, lest the light of the glorious gospel of Christ, who is the image of God, should shine unto them. %%% katonda ow'emirembe gino be yaziba amaaso g'amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw'enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira. 47C2O004.005 For we preach not ourselves, but Christ Jesus the Lord; and ourselves your servants for Jesus' sake. %%% Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. 47C2O004.006 For God, who commanded the light to shine out of darkness, hath shined in our hearts, to give the light of the knowledge of the glory of God in the face of Jesus Christ. %%% Kubanga Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo. 47C2O004.007 But we have this treasure in earthen vessels, that the excellency of the power may be of God, and not of us. %%% Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe; 47C2O004.008 We are troubled on every side, yet not distressed; we are perplexed, but not in despair; %%% tutaayizibwa eruuyi n'eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so si kweraliikiririra ddala: 47C2O004.009 Persecuted, but not forsaken; cast down, but not destroyed; %%% tuyiggayizibwa, naye tetulekebwa; tumeggebwa, naye tetuzikirira; 47C2O004.010 Always bearing about in the body the dying of the Lord Jesus, that the life also of Jesus might be made manifest in our body. %%% bulijjo nga tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe. 47C2O004.011 For we which live are alway delivered unto death for Jesus' sake, that the life also of Jesus might be made manifest in our mortal flesh. %%% Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa. 47C2O004.012 So then death worketh in us, but life in you. %%% Bwe kityo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu mu mmwe. 47C2O004.013 We having the same spirit of faith, according as it is written, I believed, and therefore have I spoken; we also believe, and therefore speak; %%% Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti Nakkiriza, kyennava njogera era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera; 47C2O004.014 Knowing that he which raised up the Lord Jesus shall raise up us also by Jesus, and shall present us with you. %%% nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. 47C2O004.015 For all things are for your sakes, that the abundant grace might through the thanksgiving of many redound to the glory of God. %%% Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo bwe kyeyongera olw'abangi kiryoke kyongezenga okwebaza Katonda aweebwe ekitiibwa. 47C2O004.016 For which cause we faint not; but though our outward man perish, yet the inward man is renewed day by day. %%% Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe w'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo. 47C2O004.017 For our light affliction, which is but for a moment, worketh for us a far more exceeding and eternal weight of glory; %%% Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe; 47C2O004.018 While we look not at the things which are seen, but at the things which are not seen: for the things which are seen are temporal; but the things which are not seen are eternal. %%% ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe. 47C2O005.001 For we know that if our earthly house of this tabernacle were dissolved, we have a building of God, an house not made with hands, eternal in the heavens. %%% Kubanga tumanyi nti, oba ng'ennyumba yaffe ey'ensiisira ey'omu nsi eryabizibwa, tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba etaazimbibwa na mikono, ey'emirenbe n'emirembe, ey'omu ggulu. 47C2O005.002 For in this we groan, earnestly desiring to be clothed upon with our house which is from heaven: %%% Kubanga tusindira mu eno, nga twegomba okwambazibwa ennyunba yaffe eriva mu ggulu: 47C2O005.003 If so be that being clothed we shall not be found naked. %%% bwe tulyambazibwa, mpozzi tuleme okusangibwa nga tuli bwereere. 47C2O005.004 For we that are in this tabernacle do groan, being burdened: not for that we would be unclothed, but clothed upon, that mortality might be swallowed up of life. %%% Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwambula, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu. 47C2O005.005 Now he that hath wrought us for the selfsame thing is God, who also hath given unto us the earnest of the Spirit. %%% Naye eyatukolera ekyo ye Katonda, eyatuwa omusingo ogw'Omwoyo. 47C2O005.006 Therefore we are always confident, knowing that, whilst we are at home in the body, we are absent from the Lord: %%% Kyetuva tuguma omwoyo ennaku zonna, era tumanya nga bwe tuba mu mubiri tuba wala Mukama waffe 47C2O005.007 (For we walk by faith, not by sight:) %%% (kubanga tutambula olw'okukkiriza, si lwa kulaba); 47C2O005.008 We are confident, I say, and willing rather to be absent from the body, and to be present with the Lord. %%% tuguma omwoyo, era kino kye tusinga okwagala, okuba ewala omubiri n'okubeera Mukama waffe gy'ali. 47C2O005.009 Wherefore we labour, that, whether present or absent, we may be accepted of him. %%% Era kyetuva tufuba, oba nga tukyali muno, oba nga tuli wala, okusiimibwa ye. 47C2O005.010 For we must all appear before the judgment seat of Christ; that every one may receive the things done in his body, according to that he hath done, whether it be good or bad. %%% Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi. 47C2O005.011 Knowing therefore the terror of the Lord, we persuade men; but we are made manifest unto God; and I trust also are made manifest in your consciences. %%% Kale, bwe tumanya entiisa ya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye tulabisibwa eri Katonda: era nsuubira nga tulabisibwa ne mu myoyo gyammwe. 47C2O005.012 For we commend not ourselves again unto you, but give you occasion to glory on our behalf, that ye may have somewhat to answer them which glory in appearance, and not in heart. %%% Tetwetendereza nate eri mmwe, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okwenyumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n'eky'okubaddamu abeenyumiriza mu maaso, so si mu mutima. 47C2O005.013 For whether we be beside ourselves, it is to God: or whether we be sober, it is for your cause. %%% Kuba oba nga tulaluse, tulaluse eri Katonda; oba nga twegendereza, twegendereza eri mmwe. 47C2O005.014 For the love of Christ constraineth us; because we thus judge, that if one died for all, then were all dead: %%% Kubanga okwagala kwa Kristo kutuwaliriza, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa; 47C2O005.015 And that he died for all, that they which live should not henceforth live unto themselves, but unto him which died for them, and rose again. %%% naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira. 47C2O005.016 Wherefore henceforth know we no man after the flesh: yea, though we have known Christ after the flesh, yet now henceforth know we him no more. %%% Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna mu mubiri: okumanya newakubadde nga twamanya Kristo mu mubiri, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo. 47C2O005.017 Therefore if any man be in Christ, he is a new creature: old things are passed away; behold, all things are become new. %%% Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya. 47C2O005.018 And all things are of God, who hath reconciled us to himself by Jesus Christ, and hath given to us the ministry of reconciliation; %%% Naye byonna biva eri Katonda, eyatutabaganya naye yekka ku bwa Kristo, n'atuwa ffe okuweereza okw'okutabaganya; nti 47C2O005.019 To wit, that God was in Christ, reconciling the world unto himself, not imputing their trespasses unto them; and hath committed unto us the word of reconciliation. %%% Katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya. 47C2O005.020 Now then we are ambassadors for Christ, as though God did beseech you by us: we pray you in Christ's stead, be ye reconciled to God. %%% Kyetuva tubeera ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng'afaanana ng'abeegayirira mu ffe: tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda. 47C2O005.021 For he hath made him to be sin for us, who knew no sin; that we might be made the righteousness of God in him. %%% Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye. 47C2O006.001 We then, as workers together with him, beseech you also that ye receive not the grace of God in vain. %%% Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda 47C2O006.002 (For he saith, I have heard thee in a time accepted, and in the day of salvation have I succoured thee: behold, now is the accepted time; behold, now is the day of salvation.) %%% (kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi): 47C2O006.003 Giving no offence in any thing, that the ministry be not blamed: %%% nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa; 47C2O006.004 But in all things approving ourselves as the ministers of God, in much patience, in afflictions, in necessities, in distresses, %%% naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku, 47C2O006.005 In stripes, in imprisonments, in tumults, in labours, in watchings, in fastings; %%% mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, mu kusiiba; 47C2O006.006 By pureness, by knowledge, by longsuffering, by kindness, by the Holy Ghost, by love unfeigned, %%% mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi; 47C2O006.007 By the word of truth, by the power of God, by the armour of righteousness on the right hand and on the left, %%% mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; olw'ebyokulwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono, 47C2O006.008 By honour and dishonour, by evil report and good report: as deceivers, and yet true; %%% olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, elw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'abalimba, era naye ab'amazima; 47C2O006.009 As unknown, and yet well known; as dying, and, behold, we live; as chastened, and not killed; %%% ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutattibwa; 47C2O006.010 As sorrowful, yet alway rejoicing; as poor, yet making many rich; as having nothing, and yet possessing all things. %%% ng'abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna. 47C2O006.011 O ye Corinthians, our mouth is open unto you, our heart is enlarged. %%% Akamwa kaffe kaasamiddwa eri mmwe, Abakkolinso, omutima gwaffe gugaziye. 47C2O006.012 Ye are not straitened in us, but ye are straitened in your own bowels. %%% Temufunze mu ffe, naye mufunze mu myoyo gyammwe. 47C2O006.013 Now for a recompence in the same, (I speak as unto my children,) be ye also enlarged. %%% Naye mulyoke munsasule bwe mutyo (mbabuulira ng'abaana bange), nammwe mugaziwe. 47C2O006.014 Be ye not unequally yoked together with unbelievers: for what fellowship hath righteousness with unrighteousness? and what communion hath light with darkness? %%% Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza? 47C2O006.015 And what concord hath Christ with Belial? or what part hath he that believeth with an infidel? %%% Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omukkiriza n'atali mukkiriza? 47C2O006.016 And what agreement hath the temple of God with idols? for ye are the temple of the living God; as God hath said, I will dwell in them, and walk in them; and I will be their God, and they shall be my people. %%% Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange. 47C2O006.017 Wherefore come out from among them, and be ye separate, saith the Lord, and touch not the unclean thing; and I will receive you, %%% Kale Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama: So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza. 47C2O006.018 And will be a Father unto you, and ye shall be my sons and daughters, saith the Lord Almighty. %%% Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna. 47C2O007.001 Having therefore these promises, dearly beloved, let us cleanse ourselves from all filthiness of the flesh and spirit, perfecting holiness in the fear of God. %%% Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda. 47C2O007.002 Receive us; we have wronged no man, we have corrupted no man, we have defrauded no man. %%% Mutukkirize: tetwonoonanga muntu yenna, tetuguliriranga muntu yenna, tetulyazaamaanyanga muntu yenna: 47C2O007.003 I speak not this to condemn you: for I have said before, that ye are in our hearts to die and live with you. %%% Soogedde kubanenya: kubanga edda nnayogera nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe. 47C2O007.004 Great is my boldness of speech toward you, great is my glorying of you: I am filled with comfort, I am exceeding joyful in all our tribulation. %%% Njogera n'obuvumu bungi eri mmwe, nneenyumiriza nnyo ku lwammwe: njijudde nnyo essanyu, nsukkiridde okujaguza mu bibonoobono byaffe byonna. 47C2O007.005 For, when we were come into Macedonia, our flesh had no rest, but we were troubled on every side; without were fightings, within were fears. %%% Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya. 47C2O007.006 Nevertheless God, that comforteth those that are cast down, comforted us by the coming of Titus; %%% Naye asanyusa abawombeefu ye Katonda, n'atusanyusa ffe, olw'okujja kwa Tito; 47C2O007.007 And not by his coming only, but by the consolation wherewith he was comforted in you, when he told us your earnest desire, your mourning, your fervent mind toward me; so that I rejoiced the more. %%% so si lwa kujja kwe kwokka, era naye olw'okusanyusibwa kwe yasanyusibwa mu mmwe, bwe yatubuulira okwegomba kwammwe, okunakuwala kwammwe, okunyiikira kwammwe ku lwange; nange kyennava nneeyongera okusanyuka. 47C2O007.008 For though I made you sorry with a letter, I do not repent, though I did repent: for I perceive that the same epistle hath made you sorry, though it were but for a season. %%% Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga namala okwejjusa; kubanga ndabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza kaseera. 47C2O007.009 Now I rejoice, not that ye were made sorry, but that ye sorrowed to repentance: for ye were made sorry after a godly manner, that ye might receive damage by us in nothing. %%% Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe. 47C2O007.010 For godly sorrow worketh repentance to salvation not to be repented of: but the sorrow of the world worketh death. %%% Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa. 47C2O007.011 For behold this selfsame thing, that ye sorrowed after a godly sort, what carefulness it wrought in you, yea, what clearing of yourselves, yea, what indignation, yea, what fear, yea, what vehement desire, yea, what zeal, yea, what revenge! In all things ye have approved yourselves to be clear in this matter. %%% Kubanga, laba, okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba okungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era n'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo. 47C2O007.012 Wherefore, though I wrote unto you, I did it not for his cause that had done the wrong, nor for his cause that suffered wrong, but that our care for you in the sight of God might appear unto you. %%% Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi; newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda. 47C2O007.013 Therefore we were comforted in your comfort: yea, and exceedingly the more joyed we for the joy of Titus, because his spirit was refreshed by you all. %%% Kyetwava tusanyusibwa: ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna. 47C2O007.014 For if I have boasted any thing to him of you, I am not ashamed; but as we spake all things to you in truth, even so our boasting, which I made before Titus, is found a truth. %%% Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima. 47C2O007.015 And his inward affection is more abundant toward you, whilst he remembereth the obedience of you all, how with fear and trembling ye received him. %%% N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli, ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana. 47C2O007.016 I rejoice therefore that I have confidence in you in all things. %%% Nsanyuse kubanga mu byonna nguma omwoyo mu mmwe. 47C2O008.001 Moreover, brethren, we do you to wit of the grace of God bestowed on the churches of Macedonia; %%% Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa mu kkanisa ez'e Makedoni; 47C2O008.002 How that in a great trial of affliction the abundance of their joy and their deep poverty abounded unto the riches of their liberality. %%% mu kubonaabona okwabakema ennyo essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwayinga obungi byasukkirira mu bugagga obw'obugabi bwabwe. 47C2O008.003 For to their power, I bear record, yea, and beyond their power they were willing of themselves; %%% Kubanga, ntegeeza bo, baagaba bokka nga bwe baayinza era n'okusinga obuyinza bwabwe, 47C2O008.004 Praying us with much intreaty that we would receive the gift, and take upon us the fellowship of the ministering to the saints. %%% nga batusaba n'okwegayirira okungi olw'ekisa ekyo n'okussa ekimu okwo mu kuweereza abatukuvu; 47C2O008.005 And this they did, not as we hoped, but first gave their own selves to the Lord, and unto us by the will of God. %%% so si nga bwe nnali ndowooza, naye baasooka okwewaayo bokka eri Mukama waffe, n'eri ffe mu kwagala kwa Katonda. 47C2O008.006 Insomuch that we desired Titus, that as he had begun, so he would also finish in you the same grace also. %%% Kyetwava tubuulirira Tito, nga bwe yatanula edda, era bw'atyo alyoke akituukirize era n'ekisa ekyo gye muli. 47C2O008.007 Therefore, as ye abound in every thing, in faith, and utterance, and knowledge, and in all diligence, and in your love to us, see that ye abound in this grace also. %%% Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe eri ffe, era musukkirirenga ne mu kisa ekyo. 47C2O008.008 I speak not by commandment, but by occasion of the forwardness of others, and to prove the sincerity of your love. %%% Soogera nga mbalagira bulagizi, wabula olw'okufuba kw'abalala nga nkema okwagala kwammwe nga kwa mazima. 47C2O008.009 For ye know the grace of our Lord Jesus Christ, that, though he was rich, yet for your sakes he became poor, that ye through his poverty might be rich. %%% Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe. 47C2O008.010 And herein I give my advice: for this is expedient for you, who have begun before, not only to do, but also to be forward a year ago. %%% Era mbagambye kye ndowooza olw'ekyo: kubanga kibasaanira mmwe, abaasooka okutanula, si kukola kwokka, era naye n'okwagala, nga mwakamala omwaka gumu. 47C2O008.011 Now therefore perform the doing of it; that as there was a readiness to will, so there may be a performance also out of that which ye have. %%% Naye kaakano mutuukirize n'okukola; nga bwe waaliwo okwagala amangu, era n'okutuukiriza bwe kutyo kulyoke kubeerewo, nga bwe muyinza. 47C2O008.012 For if there be first a willing mind, it is accepted according to that a man hath, and not according to that he hath not. %%% Kuba oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng'omuntu bw'alina, si nga bw'atalina. 47C2O008.013 For I mean not that other men be eased, and ye burdened: %%% Kubanga soogedde bwe ntyo, abalala bawummuzibwe, nammwe muteganyizibwe: 47C2O008.014 But by an equality, that now at this time your abundance may be a supply for their want, that their abundance also may be a supply for your want: that there may be equality: %%% wabula olw'okwenkanankana, okusukkirira kwammwe kuweereze okwetaaga kwabwe kaakano mu biro bino, era n'okusukkirira kwabwe kulyoke kuweereze okwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo: 47C2O008.015 As it is written, He that had gathered much had nothing over; and he that had gathered little had no lack. %%% nga bwe kyawandiikibwa nti Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga. 47C2O008.016 But thanks be to God, which put the same earnest care into the heart of Titus for you. %%% Naye Katonda yeebazibwe, eyassa mu mutima gwe Tito okufuba okwo ku lwammwe. 47C2O008.017 For indeed he accepted the exhortation; but being more forward, of his own accord he went unto you. %%% Kubanga okukkiriza akkirizza okubuulirira kwaffe; kubanga naye yennyini alina okufuba okungi, asitula okugenda gye muli nga yeetuma. 47C2O008.018 And we have sent with him the brother, whose praise is in the gospel throughout all the churches; %%% Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa mu njiri mu kkanisa zonna; 47C2O008.019 And not that only, but who was also chosen of the churches to travel with us with this grace, which is administered by us to the glory of the same Lord, and declaration of your ready mind: %%% so si ekyo kyokka, era so naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage okwagala kwaffe amangu: 47C2O008.020 Avoiding this, that no man should blame us in this abundance which is administered by us: %%% nga twewala ekyo, omuntu obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza: 47C2O008.021 Providing for honest things, not only in the sight of the Lord, but also in the sight of men. %%% kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu. 47C2O008.022 And we have sent with them our brother, whom we have oftentimes proved diligent in many things, but now much more diligent, upon the great confidence which I have in you. %%% Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano munyiikivu nnyo okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina eri mmwe. 47C2O008.023 Whether any do enquire of Titus, he is my partner and fellowhelper concerning you: or our brethren be enquired of, they are the messengers of the churches, and the glory of Christ. %%% Omuntu bw'anaabuuzanga ebya Tito, ye assa ekimu nange era ye mukozi munnange eri mmwe; oba bya baganda baffe, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo. 47C2O008.024 Wherefore shew ye to them, and before the churches, the proof of your love, and of our boasting on your behalf. %%% Kale mubalage mu maaso g'ekkanisa ekiraga okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe. 47C2O009.001 For as touching the ministering to the saints, it is superfluous for me to write to you: %%% Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira: 47C2O009.002 For I know the forwardness of your mind, for which I boast of you to them of Macedonia, that Achaia was ready a year ago; and your zeal hath provoked very many. %%% kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo. 47C2O009.003 Yet have I sent the brethren, lest our boasting of you should be in vain in this behalf; that, as I said, ye may be ready: %%% Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke: 47C2O009.004 Lest haply if they of Macedonia come with me, and find you unprepared, we (that we say not, ye) should be ashamed in this same confident boasting. %%% mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwebalibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo. 47C2O009.005 Therefore I thought it necessary to exhort the brethren, that they would go before unto you, and make up beforehand your bounty, whereof ye had notice before, that the same might be ready, as a matter of bounty, and not as of covetousness. %%% Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere: okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa. 47C2O009.006 But this I say, He which soweth sparingly shall reap also sparingly; and he which soweth bountifully shall reap also bountifully. %%% Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi. 47C2O009.007 Every man according as he purposeth in his heart, so let him give; not grudgingly, or of necessity: for God loveth a cheerful giver. %%% Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu. 47C2O009.008 And God is able to make all grace abound toward you; that ye, always having all sufficiency in all things, may abound to every good work: %%% Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi: 47C2O009.009 (As it is written, He hath dispersed abroad; he hath given to the poor: his righteousness remaineth for ever. %%% nga bwe kyawandiikibwa nti Yasasaanya, yagabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna. 47C2O009.010 Now he that ministereth seed to the sower both minister bread for your food, and multiply your seed sown, and increase the fruits of your righteousness;) %%% Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga, anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe: 47C2O009.011 Being enriched in every thing to all bountifulness, which causeth through us thanksgiving to God. %%% nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe. 47C2O009.012 For the administration of this service not only supplieth the want of the saints, but is abundant also by many thanksgivings unto God; %%% Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda; 47C2O009.013 Whiles by the experiment of this ministration they glorify God for your professed subjection unto the gospel of Christ, and for your liberal distribution unto them, and unto all men; %%% kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna; 47C2O009.014 And by their prayer for you, which long after you for the exceeding grace of God in you. %%% era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe: 47C2O009.015 Thanks be unto God for his unspeakable gift. %%% Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka. 47C2O010.001 Now I Paul myself beseech you by the meekness and gentleness of Christ, who in presence am base among you, but being absent am bold toward you: %%% Naye nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzira; 47C2O010.002 But I beseech you, that I may not be bold when I am present with that confidence, wherewith I think to be bold against some, which think of us as if we walked according to the flesh. %%% kale mbeegayirira bwegayirizi, lwe ndibaawo nneme okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okuba nabwo eri abalala abalowooza nga ffe tutambuIa okugobereranga omubiri. 47C2O010.003 For though we walk in the flesh, we do not war after the flesh: %%% Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri 47C2O010.004 (For the weapons of our warfare are not carnal, but mighty through God to the pulling down of strong holds;) %%% (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo); 47C2O010.005 Casting down imaginations, and every high thing that exalteth itself against the knowledge of God, and bringing into captivity every thought to the obedience of Christ; %%% nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo; 47C2O010.006 And having in a readiness to revenge all disobedience, when your obedience is fulfilled. %%% era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda kwammwe bwe kulituukirira. 47C2O010.007 Do ye look on things after the outward appearance? If any man trust to himself that he is Christ's, let him of himself think this again, that, as he is Christ's, even so are we Christ's. %%% Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeewulira muli nga wa Kristo yeerowooze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era naffe bwe tutyo. 47C2O010.008 For though I should boast somewhat more of our authority, which the Lord hath given us for edification, and not for your destruction, I should not be ashamed: %%% Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe (Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula), ssirikwatibwa nsonyi: 47C2O010.009 That I may not seem as if I would terrify you by letters. %%% nneme okufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange. 47C2O010.010 For his letters, say they, are weighty and powerful; but his bodily presence is weak, and his speech contemptible. %%% Kubanga boogera nti Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; naye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu. 47C2O010.011 Let such an one think this, that, such as we are in word by letters when we are absent, such will we be also in deed when we are present. %%% Ali bw'atyo alowooze kino nti nga bwe tuli mu bigambo mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bwe tutyo bwe tuli mu bikolwa nga tuli eyo. 47C2O010.012 For we dare not make ourselves of the number, or compare ourselves with some that commend themselves: but they measuring themselves by themselves, and comparing themselves among themselves, are not wise. %%% Kubanga tetwaŋŋanga kwerowooza nga tuli ku muwendo gw'abalala ku bo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina magezi. 47C2O010.013 But we will not boast of things without our measure, but according to the measure of the rule which God hath distributed to us, a measure to reach even unto you. %%% Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli: 47C2O010.014 For we stretch not ourselves beyond our measure, as though we reached not unto you: for we are come as far as to you also in preaching the gospel of Christ: %%% Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo: 47C2O010.015 Not boasting of things without our measure, that is, of other men's labours; but having hope, when your faith is increased, that we shall be enlarged by you according to our rule abundantly, %%% nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala: naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira, 47C2O010.016 To preach the gospel in the regions beyond you, and not to boast in another man's line of things made ready to our hand. %%% era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga mmwe, era obuteenyumiriza mu nsalo ey'abalala olw'ebyeteeseteese. 47C2O010.017 But he that glorieth, let him glory in the Lord. %%% Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe. 47C2O010.018 For not he that commendeth himself is approved, but whom the Lord commendeth. %%% Kubanga eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula Mukama waffe gw'atendereza. 47C2O011.001 Would to God ye could bear with me a little in my folly: and indeed bear with me. %%% Singa mungumiikirizza mu busirusiru obutono; era naye mungumiikirize. 47C2O011.002 For I am jealous over you with godly jealousy: for I have espoused you to one husband, that I may present you as a chaste virgin to Christ. %%% Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: kubanga nnabafumbiza bbammwe omu, ndyoke mbaleete eri Kristo nga omuwala omulongoofu. 47C2O011.003 But I fear, lest by any means, as the serpent beguiled Eve through his subtilty, so your minds should be corrupted from the simplicity that is in Christ. %%% Naye ntidde, ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo. 47C2O011.004 For if he that cometh preacheth another Jesus, whom we have not preached, or if ye receive another spirit, which ye have not received, or another gospel, which ye have not accepted, ye might well bear with him. %%% Kuba oyo ajja bw'abuulira Yesu omulala gwe tutaabuulira, oba bwe muweebwa omwoyo omulala gwe mutaaweebwa, oba njiri ndala, gye mutakkiriza, mukola bulungi okumugumiikiriza. 47C2O011.005 For I suppose I was not a whit behind the very chiefest apostles. %%% Kubanga ndowooza nga ssisingibwa n'akatono abatume abakulu ennyo. 47C2O011.006 But though I be rude in speech, yet not in knowledge; but we have been throughly made manifest among you in all things. %%% Naye newakubadde nga ndi muligo mu bigambo, naye ssiri muligo mu kutegeera; naye mu byonna twakwolesa mu bantu bonna eri mmwe. 47C2O011.007 Have I committed an offence in abasing myself that ye might be exalted, because I have preached to you the gospel of God freely? %%% Oba nnayonoona bwe nneetoowaza nzekka mmwe mugulumizibwe kubanga nnababuulira enjiri ya Katonda ey'obwereere? 47C2O011.008 I robbed other churches, taking wages of them, to do you service. %%% Nnanyaga ekkanisa endala, nga mpeebwa empeera olw'okubaweereza mmwe; 47C2O011.009 And when I was present with you, and wanted, I was chargeable to no man: for that which was lacking to me the brethren which came from Macedonia supplied: and in all things I have kept myself from being burdensome unto you, and so will I keep myself. %%% era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda bwe baava mu Makedoni, baatuukiriza ebyali bimbuze; ne mu byonna nneekuuma obutabazitoowereranga, era nneekuumanga bwe ntyo. 47C2O011.010 As the truth of Christ is in me, no man shall stop me of this boasting in the regions of Achaia. %%% Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, siwali alinziyiza okwenyumiriza okwo mu nsalo ez'e Yakaya. 47C2O011.011 Wherefore? because I love you not? God knoweth. %%% Lwaki? kubanga sibaagala? Katonda amanyi. 47C2O011.012 But what I do, that I will do, that I may cut off occasion from them which desire occasion; that wherein they glory, they may be found even as we. %%% Naye bwe nkola, era bwe nnaakolanga, mbaggirewo awasinziirwa abo abaagala awasinziirwa, balabike era nga ffe mu kigambo kye beenyumiririzaamu. 47C2O011.013 For such are false apostles, deceitful workers, transforming themselves into the apostles of Christ. %%% Kubanga abali ng'abo be batume ab'obulimba, abakozi ab'obukuusa, abeefaananya ng'abatume ba Kristo. 47C2O011.014 And no marvel; for Satan himself is transformed into an angel of light. %%% So si kya magero; kubanga ne Setaani yeefaananya nga malayika ow'omusana. 47C2O011.015 Therefore it is no great thing if his ministers also be transformed as the ministers of righteousness; whose end shall be according to their works. %%% Kale si kitalo era n'abaweereza be bwe beefaananya ng'abaweereza ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe. 47C2O011.016 I say again, Let no man think me a fool; if otherwise, yet as a fool receive me, that I may boast myself a little. %%% Njogera nate nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, naye munsembeze ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono. 47C2O011.017 That which I speak, I speak it not after the Lord, but as it were foolishly, in this confidence of boasting. %%% Kye njogera, sikyogera nga kigambo kya Mukama waffe, naye nga mu busirusiru, mu buvumu buno obw'okwenyumiriza. 47C2O011.018 Seeing that many glory after the flesh, I will glory also. %%% Kubanga bangi abeenyumiriza mu mubiri, nange nneenyumiriza. 47C2O011.019 For ye suffer fools gladly, seeing ye yourselves are wise. %%% Kubanga mugumiikiriza n'essanyu abasirusiru, kubanga mmwe muli bagezigezi. 47C2O011.020 For ye suffer, if a man bring you into bondage, if a man devour you, if a man take of you, if a man exalt himself, if a man smite you on the face. %%% Kubanga mugumiikiriza omuntu, bw'abafuula abaddu, bw'abamira, bw'abawamba, bwe yeegulumiza, bw'abakuba amaaso. 47C2O011.021 I speak as concerning reproach, as though we had been weak. Howbeit whereinsoever any is bold, (I speak foolishly,) I am bold also. %%% Njogedde olw'okweswaza, ng'abanafuwala. Naye omuntu yenna ky'agumira (njogera mu busirusiru), nange nguma. 47C2O011.022 Are they Hebrews? so am I. Are they Israelites? so am I. Are they the seed of Abraham? so am I. %%% Bo Baebbulaniya? nange. Bo Baisiraeri? nange. Bo zzadde lya Ibulayimu? nange. 47C2O011.023 Are they ministers of Christ? (I speak as a fool) I am more; in labours more abundant, in stripes above measure, in prisons more frequent, in deaths oft. %%% Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, mu kufa emirundi emingi. 47C2O011.024 Of the Jews five times received I forty stripes save one. %%% Eri Abayudaaya nnakubibwa emirundi etaano emiggo amakumi asatu mu mwenda. 47C2O011.025 Thrice was I beaten with rods, once was I stoned, thrice I suffered shipwreck, a night and a day I have been in the deep; %%% Emirundi esatu nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu eryato lyamenyeka, nnasula ne nsiiba mu buziba; 47C2O011.026 In journeyings often, in perils of waters, in perils of robbers, in perils by mine own countrymen, in perils by the heathen, in perils in the city, in perils in the wilderness, in perils in the sea, in perils among false brethren; %%% mu kutambulanga emirundi emingi, mu bubi obw'emigga, mu bubi obw'abanyazi, mu bubi obuva eri eggwanga lyange, mu bubi obuva eri ab'amawanga, mu bubi obw'omu kibuga, mu bubi obw'omu ddungu, mu bubi obw'omunnyanja, mu bubi obw'ab'oluganda ab'obulimba; 47C2O011.027 In weariness and painfulness, in watchings often, in hunger and thirst, in fastings often, in cold and nakedness. %%% mu kufuba n'okukoowa, mu kutunulanga emirundi emingi, mu njala n'ennyonta, mu kusiibanga emirundi emingi, mu mpewo n'okubeera obwereere. 47C2O011.028 Beside those things that are without, that which cometh upon me daily, the care of all the churches. %%% Obutassaako bya bweru, waliwo ekinzitoowerera bulijjo bulijjo, okwerariikiriranga olw'ekkanisa zonna. 47C2O011.029 Who is weak, and I am not weak? who is offended, and I burn not? %%% Ani omunafu, nange bwe ssiba munafu? ani eyeesittazibwa, nange bwe ssaaka? 47C2O011.030 If I must needs glory, I will glory of the things which concern mine infirmities. %%% Oba nga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, nneenyumirizanga olw'eby'obunafu bwange. 47C2O011.031 The God and Father of our Lord Jesus Christ, which is blessed for evermore, knoweth that I lie not. %%% Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, eyeebazibwa emirembe gyonna, amanyi nga ssirimba. 47C2O011.032 In Damascus the governor under Aretas the king kept the city of the Damascenes with a garrison, desirous to apprehend me: %%% Mu Ddamasiko ow’essaza owa Aleta kabaka yateega ekibuga eky'Abadamasiko, alyoke ankwate: 47C2O011.033 And through a window in a basket was I let down by the wall, and escaped his hands. %%% ne bampisa mu ddirisa nga ndi mu kisero ku bbugwe, ne ndokoka okuva mu mikono gye. 47C2O012.001 It is not expedient for me doubtless to glory. I will come to visions and revelations of the Lord. %%% Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe. 47C2O012.002 I knew a man in Christ above fourteen years ago, (whether in the body, I cannot tell; or whether out of the body, I cannot tell: God knoweth;) such an one caught up to the third heaven. %%% Mmanyi omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka ekkumi n'ena (oba mu mubiri, ssimanyi; oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi), okutwalibwa omuntu ali bw'atyo mu ggulu ery'okusatu. 47C2O012.003 And I knew such a man, (whether in the body, or out of the body, I cannot tell: God knoweth;) %%% Era, mmanyi omuntu ali bw'atyo (oba mu mubiri, oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi), 47C2O012.004 How that he was caught up into paradise, and heard unspeakable words, which it is not lawful for a man to utter. %%% bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula. 47C2O012.005 Of such an one will I glory: yet of myself I will not glory, but in mine infirmities. %%% Ku bw'omuntu ali bw'atyo nneenyumirizanga: naye ku bwange ssiryenyumiriza, wabula mu by'obunafu bwange. 47C2O012.006 For though I would desire to glory, I shall not be a fool; for I will say the truth: but now I forbear, lest any man should think of me above that which he seeth me to be, or that he heareth of me. %%% Kuba singa nayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga nandyogedde amazima: naye ndeka, omuntu yenna alemenga okundowooza okusinga bw'andaba oba bw'ampulira. 47C2O012.007 And lest I should be exalted above measure through the abundance of the revelations, there was given to me a thorn in the flesh, the messenger of Satan to buffet me, lest I should be exalted above measure. %%% N'olw'obukulu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulibwa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo. 47C2O012.008 For this thing I besought the Lord thrice, that it might depart from me. %%% Olw'ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko. 47C2O012.009 And he said unto me, My grace is sufficient for thee: for my strength is made perfect in weakness. Most gladly therefore will I rather glory in my infirmities, that the power of Christ may rest upon me. %%% N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze. 47C2O012.010 Therefore I take pleasure in infirmities, in reproaches, in necessities, in persecutions, in distresses for Christ's sake: for when I am weak, then am I strong. %%% Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi. 47C2O012.011 I am become a fool in glorying; ye have compelled me: for I ought to have been commended of you: for in nothing am I behind the very chiefest apostles, though I be nothing. %%% Nfuuse musirusiru: mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira okutenderezebwa mmwe; kubanga ssaasingibwa mu kigambo kyonna abatume abakulu ennyo, newakubadde nga nze siri kintu. 47C2O012.012 Truly the signs of an apostle were wrought among you in all patience, in signs, and wonders, and mighty deeds. %%% Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi. 47C2O012.013 For what is it wherein ye were inferior to other churches, except it be that I myself was not burdensome to you? forgive me this wrong. %%% Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingiramu, wabula nze nzekka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo. 47C2O012.014 Behold, the third time I am ready to come to you; and I will not be burdensome to you: for I seek not yours, but you: for the children ought not to lay up for the parents, but the parents for the children. %%% Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana. 47C2O012.015 And I will very gladly spend and be spent for you; though the more abundantly I love you, the less I be loved. %%% Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono? 47C2O012.016 But be it so, I did not burden you: nevertheless, being crafty, I caught you with guile. %%% Naye si musango, nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nabateega mu lukwe. 47C2O012.017 Did I make a gain of you by any of them whom I sent unto you? %%% Omuntu yenna gwe nnabatumira nnamufunya amagoba eri mmwe? 47C2O012.018 I desired Titus, and with him I sent a brother. Did Titus make a gain of you? walked we not in the same spirit? walked we not in the same steps? %%% Nnabuulirira Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafuna amagoba eri mmwe? tetwatambula n'Omwoyo omu? tetwatambulira mu kisinde kimu? 47C2O012.019 Again, think ye that we excuse ourselves unto you? we speak before God in Christ: but we do all things, dearly beloved, for your edifying. %%% Obw'edda mulowoozezza nga ffe tubawoleza ensonga. Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, bya kubazimba mmwe. 47C2O012.020 For I fear, lest, when I come, I shall not find you such as I would, and that I shall be found unto you such as ye would not: lest there be debates, envyings, wraths, strifes, backbitings, whisperings, swellings, tumults: %%% Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi okubeera eyo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, okujeema; 47C2O012.021 And lest, when I come again, my God will humble me among you, and that I shall bewail many which have sinned already, and have not repented of the uncleanness and fornication and lasciviousness which they have committed. %%% bwe ndijja nate, Katonda wange aleme okuntoowaza eri mmwe, nange okubanakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola. 47C2O013.001 This is the third time I am coming to you. In the mouth of two or three witnesses shall every word be established. %%% Kaakano njija gye muli omulundi ogw'okusatu. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera. 47C2O013.002 I told you before, and foretell you, as if I were present, the second time; and being absent now I write to them which heretofore have sinned, and to all other, that, if I come again, I will not spare: %%% Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogw'okubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira; 47C2O013.003 Since ye seek a proof of Christ speaking in me, which to you-ward is not weak, but is mighty in you. %%% kubanga munoonya ekitegeeza nga Kristo ayogerera mu nze; atali munafu eri mmwe, naye alina amaanyi mu mmwe: 47C2O013.004 For though he was crucified through weakness, yet he liveth by the power of God. For we also are weak in him, but we shall live with him by the power of God toward you. %%% kubanga yakomererwa olw'obunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda eri mmwe. 47C2O013.005 Examine yourselves, whether ye be in the faith; prove your own selves. Know ye not your own selves, how that Jesus Christ is in you, except ye be reprobates? %%% Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temwetegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? wabula nga muli abatasiimibwa. 47C2O013.006 But I trust that ye shall know that we are not reprobates. %%% Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetuli batasiimibwa. 47C2O013.007 Now I pray to God that ye do no evil; not that we should appear approved, but that ye should do that which is honest, though we be as reprobates. %%% Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa. 47C2O013.008 For we can do nothing against the truth, but for the truth. %%% Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba. 47C2O013.009 For we are glad, when we are weak, and ye are strong: and this also we wish, even your perfection. %%% Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n'amaanyi: era na kino tukisaba, mmwe, okutuukirira. 47C2O013.010 Therefore I write these things being absent, lest being present I should use sharpness, according to the power which the Lord hath given me to edification, and not to destruction. %%% Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya. 47C2O013.011 Finally, brethren, farewell. Be perfect, be of good comfort, be of one mind, live in peace; and the God of love and peace shall be with you. %%% Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe: ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe. 47C2O013.012 Greet one another with an holy kiss. %%% Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. 47C2O013.013 All the saints salute you. %%% Abatukuvu bonna babalamusizza. 47C2O013.014 The grace of the Lord Jesus Christ, and the love of God, and the communion of the Holy Ghost, be with you all. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna. 48GAL001.001 Paul, an apostle, (not of men, neither by man, but by Jesus Christ, and God the Father, who raised him from the dead;) %%% Pawulo omutume (ataava mu bantu newakubadde okuyita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu), 48GAL001.002 And all the brethren which are with me, unto the churches of Galatia: %%% n'ab'oluganda bonna abali nange tubawandiikidde ekkanisa ez'e Ggalatiya: 48GAL001.003 Grace be to you and peace from God the Father, and from our Lord Jesus Christ, %%% ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, 48GAL001.004 Who gave himself for our sins, that he might deliver us from this present evil world, according to the will of God and our Father: %%% eyeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi nga bwe yayagala Katonda era Kitaffe: 48GAL001.005 To whom be glory for ever and ever. Amen. %%% aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. 48GAL001.006 I marvel that ye are so soon removed from him that called you into the grace of Christ unto another gospel: %%% Nneewuunya kubanga musenguka mangu bwe muti eyabayita mu kisa kya Kristo okugenda eri enjiri efaanana obulala; 48GAL001.007 Which is not another; but there be some that trouble you, and would pervert the gospel of Christ. %%% si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusiza ddala enjiri ya Kristo. 48GAL001.008 But though we, or an angel from heaven, preach any other gospel unto you than that which we have preached unto you, let him be accursed. %%% Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga. 48GAL001.009 As we said before, so say I now again, If any man preach any other gospel unto you than that ye have received, let him be accursed. %%% Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo bwe njogera kaakano nate nti Omuntu bw'ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweebwa, akolimirwenga. 48GAL001.010 For do I now persuade men, or God? or do I seek to please men? for if I yet pleased men, I should not be the servant of Christ. %%% Kubanga kaakano mpembera bantu nantiki Katonda? Nantiki nsala amagezi okusiimibwa abantu? Singa nnali nga nkyasiimibwa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo. 48GAL001.011 But I certify you, brethren, that the gospel which was preached of me is not after man. %%% Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti enjiri eyabuulirwa nze si ya buntu: 48GAL001.012 For I neither received it of man, neither was I taught it, but by the revelation of Jesus Christ. %%% kubanga nange ssaagiweebwa muntu so siyigirizibwanga, wabula mu kubikkulirwa kwa Yesu Kristo. 48GAL001.013 For ye have heard of my conversation in time past in the Jews' religion, how that beyond measure I persecuted the church of God, and wasted it: %%% Kubanga mwawulira bwe nnabanga edda mu mpisa z'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda awatali kigera ne nginyaga, 48GAL001.014 And profited in the Jews' religion above many my equals in mine own nation, being more exceedingly zealous of the traditions of my fathers. %%% ne mpitirizanga mu mpisa z'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange. 48GAL001.015 But when it pleased God, who separated me from my mother's womb, and called me by his grace, %%% Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye, 48GAL001.016 To reveal his Son in me, that I might preach him among the heathen; immediately I conferred not with flesh and blood: %%% okubikkulira Omwana we mu nze, ndyoke mmubuulirenga mu b'amawanga; amangu ago ssaateesa na mubiri wadde na musaayi: 48GAL001.017 Neither went I up to Jerusalem to them which were apostles before me; but I went into Arabia, and returned again unto Damascus. %%% so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume: naye nagenda mu Buwalabu, ne nkomawo nate mu Ddamasiko. 48GAL001.018 Then after three years I went up to Jerusalem to see Peter, and abode with him fifteen days. %%% Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmalayo gy'ali ennaku kkumi na ttaano. 48GAL001.019 But other of the apostles saw I none, save James the Lord's brother. %%% Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 48GAL001.020 Now the things which I write unto you, behold, before God, I lie not. %%% Kale, bye mpandiika, laba, mu maaso ga Katonda ssirimba. 48GAL001.021 Afterwards I came into the regions of Syria and Cilicia; %%% Awo ne ŋŋenda mu njuyi ez'e Busuuli ne Kirukiya. 48GAL001.022 And was unknown by face unto the churches of Judaea which were in Christ: %%% Ne mba nga sinnaba kutegeerebwa mu maaso g'ekkanisa ez'e Buyudaaya eziri mu Kristo: 48GAL001.023 But they had heard only, That he which persecuted us in times past now preacheth the faith which once he destroyed. %%% naye ne bawuliranga buwulizi nti Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yanyaganga edda. 48GAL001.024 And they glorified God in me. %%% ne bagulumiza Katonda ku lwange. 48GAL002.001 Then fourteen years after I went up again to Jerusalem with Barnabas, and took Titus with me also. %%% Awo oluvannyuma, emyaka bwe gyayitawo kkumi n'ena, nalinnya e Yerusaalemi wamu ne Balunabba ne ntwala ne Tito. 48GAL002.002 And I went up by revelation, and communicated unto them that gospel which I preach among the Gentiles, but privately to them which were of reputation, lest by any means I should run, or had run, in vain. %%% Nalinnyayo lwa kubikkulirwa; ne mbanjulira enjiri, gye mbuulira mu b'amawanga, naye mu kyama eri abo abaatenderezebwa, mpozzi nneme okugenderanga obwereere oba nga ŋŋenze. 48GAL002.003 But neither Titus, who was with me, being a Greek, was compelled to be circumcised: %%% Naye newakubadde Tito eyali awamu nange, eyali Omuyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa: 48GAL002.004 And that because of false brethren unawares brought in, who came in privily to spy out our liberty which we have in Christ Jesus, that they might bring us into bondage: %%% naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu: 48GAL002.005 To whom we gave place by subjection, no, not for an hour; that the truth of the gospel might continue with you. %%% abo tetwabagonderako ssaawa n'emu okufugibwa bo; amazima g'enjiri ganywerenga gye muli. 48GAL002.006 But of these who seemed to be somewhat, (whatsoever they were, it maketh no matter to me: God accepteth no man's person:) for they who seemed to be somewhat in conference added nothing to me: %%% Naye abaatenderezebwa okuba abakulu (nga bwe bali kye kimu gye ndi; Katonda tasosola mu bantu) abaatenderezebwa aze tebannyongerako kintu: 48GAL002.007 But contrariwise, when they saw that the gospel of the uncircumcision was committed unto me, as the gospel of the circumcision was unto Peter; %%% naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero ey'abakomole 48GAL002.008 (For he that wrought effectually in Peter to the apostleship of the circumcision, the same was mighty in me toward the Gentiles:) %%% (kubanga eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole ye yakolera nange olw'ab'amawanga); 48GAL002.009 And when James, Cephas, and John, who seemed to be pillars, perceived the grace that was given unto me, they gave to me and Barnabas the right hands of fellowship; that we should go unto the heathen, and they unto the circumcision. %%% era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu nze ne Balunabba, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole; 48GAL002.010 Only they would that we should remember the poor; the same which I also was forward to do. %%% kyokka, tujjukirenga abaavu; ekyo n'okunyiikira kye nnanyiikirira ennyo okukikolanga. 48GAL002.011 But when Peter was come to Antioch, I withstood him to the face, because he was to be blamed. %%% Naye Keefa bwe yajja e Antiyokiya, nnamuwakanya nga tulabagana amaaso n'amaaso, kubanga yali mukyamu ddala. 48GAL002.012 For before that certain came from James, he did eat with the Gentiles: but when they were come, he withdrew and separated himself, fearing them which were of the circumcision. %%% Kubanga olubereberye abantu nga tebannaba kujja kuva wa Yakobo, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole. 48GAL002.013 And the other Jews dissembled likewise with him; insomuch that Barnabas also was carried away with their dissimulation. %%% Era n'Abayudaaya abalala bonna ne bakuusakuusa wamu naye; ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe. 48GAL002.014 But when I saw that they walked not uprightly according to the truth of the gospel, I said unto Peter before them all, If thou, being a Jew, livest after the manner of Gentiles, and not as do the Jews, why compellest thou the Gentiles to live as do the Jews? %%% Naye bwe nnalaba nga tebaakwata kkubo ggolokofu mu mazima g'enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti Obanga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya? 48GAL002.015 We who are Jews by nature, and not sinners of the Gentiles, %%% Ffe Abayudaaya ab'obuzaaliranwa abatali ba mu b'amawanga abalina ebibi, 48GAL002.016 Knowing that a man is not justified by the works of the law, but by the faith of Jesus Christ, even we have believed in Jesus Christ, that we might be justified by the faith of Christ, and not by the works of the law: for by the works of the law shall no flesh be justified. %%% naye bwe tumanyi ng'omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu. 48GAL002.017 But if, while we seek to be justified by Christ, we ourselves also are found sinners, is therefore Christ the minister of sin? God forbid. %%% Naye bwe twayagala okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, oba nga twalabibwa naffe okuba n'ebibi, kale Kristo muweereza wa kibi? Kitalo. 48GAL002.018 For if I build again the things which I destroyed, I make myself a transgressor. %%% Kubanga bwe nzimba nate bye nnasuula, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi. 48GAL002.019 For I through the law am dead to the law, that I might live unto God. %%% Kubanga olw'amateeka nnafa ku mateeka, ndyoke mbe omulamu eri Katonda. 48GAL002.020 I am crucified with Christ: nevertheless I live; yet not I, but Christ liveth in me: and the life which I now live in the flesh I live by the faith of the Son of God, who loved me, and gave himself for me. %%% Nnakomererwa wamu ne Kristo; naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze: era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange. 48GAL002.021 I do not frustrate the grace of God: for if righteousness come by the law, then Christ is dead in vain. %%% Ssidibya kisa kya Katonda: kubanga obutuukirivu bwe buba mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere. 48GAL003.001 O foolish Galatians, who hath bewitched you, that ye should not obey the truth, before whose eyes Jesus Christ hath been evidently set forth, crucified among you? %%% Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi, ani eyabaloga, so nga Yesu Kristo yakomererwa nga mulaba? 48GAL003.002 This only would I learn of you, Received ye the Spirit by the works of the law, or by the hearing of faith? %%% Kino kyokka kye njagala mmwe okuntegeeza nti Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 48GAL003.003 Are ye so foolish? having begun in the Spirit, are ye now made perfect by the flesh? %%% Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mutuukiririzibwa mu mubiri? 48GAL003.004 Have ye suffered so many things in vain? if it be yet in vain. %%% Mwabonyaabonyezebwa ebyenkana awo bya bwereere? so nga ddala si bwereere. 48GAL003.005 He therefore that ministereth to you the Spirit, and worketh miracles among you, doeth he it by the works of the law, or by the hearing of faith? %%% Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa ku kkiriza? 48GAL003.006 Even as Abraham believed God, and it was accounted to him for righteousness. %%% Nga Ibulayimu bwe yakkiriza Katonda, ne kumubalirwa okubeera obutuukirivu. 48GAL003.007 Know ye therefore that they which are of faith, the same are the children of Abraham. %%% Kale mutegeere ng'abayima mu kukkiriza be baana ba Ibulayimu. 48GAL003.008 And the scripture, foreseeing that God would justify the heathen through faith, preached before the gospel unto Abraham, saying, In thee shall all nations be blessed. %%% N'ekyawandiikibwa bwe kyalaba edda Katonda bw'aliwa amawanga obutuukirivu olw’okukkiriza, ne kibuulira olubereberye Ibulayimu enjiri nti Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa. 48GAL003.009 So then they which be of faith are blessed with faithful Abraham. %%% Bwe kityo abayima mu kukkiriza baweerwa omukisa awamu ne Ibulayimu eyalina okukkiriza. 48GAL003.010 For as many as are of the works of the law are under the curse: for it is written, Cursed is every one that continueth not in all things which are written in the book of the law to do them. %%% Kubanga bonna abayima mu bikolwa by'amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka, okubikolanga. 48GAL003.011 But that no man is justified by the law in the sight of God, it is evident: for, The just shall live by faith. %%% Era kimanyiddwa nga mu mateeka tewali aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu baanabeeranga balamu lwa kukkiriza; 48GAL003.012 And the law is not of faith: but, The man that doeth them shall live in them. %%% naye amateeka tegayima mu kukkiriza; naye nti Omuntu agakola anaabeeranga mulamu mu go. 48GAL003.013 Christ hath redeemed us from the curse of the law, being made a curse for us: for it is written, Cursed is every one that hangeth on a tree: %%% Kristo yatununula mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti: 48GAL003.014 That the blessing of Abraham might come on the Gentiles through Jesus Christ; that we might receive the promise of the Spirit through faith. %%% omukisa gwa Ibulayimu gulyoke gutuuke eri amawanga mu Kristo Yesu; tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky'Omwoyo olw'okukkiriza. 48GAL003.015 Brethren, I speak after the manner of men; Though it be but a man's covenant, yet if it be confirmed, no man disannulleth, or addeth thereto. %%% Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okunywera tewali agiggyawo newakubadde agyongerako. 48GAL003.016 Now to Abraham and his seed were the promises made. He saith not, And to seeds, as of many; but as of one, And to thy seed, which is Christ. %%% Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo. 48GAL003.017 And this I say, that the covenant, that was confirmed before of God in Christ, the law, which was four hundred and thirty years after, cannot disannul, that it should make the promise of none effect. %%% Kino kye njogera nti Endagaano eyasooka okunywezebwa Katonda, amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu tegagiggyaawo n'okudibya ekyasuubizibwa. 48GAL003.018 For if the inheritance be of the law, it is no more of promise: but God gave it to Abraham by promise. %%% Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva nate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza, 48GAL003.019 Wherefore then serveth the law? It was added because of transgressions, till the seed should come to whom the promise was made; and it was ordained by angels in the hand of a mediator. %%% Kale amateeka kiki? Gassibwawo lwa kwonoona okutuusa w'alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa, gaalagirwa bamalayika mu mikono gy'omutabaganya. 48GAL003.020 Now a mediator is not a mediator of one, but God is one. %%% Naye omutabaganya si w'omu; naye Katonda ye omu. 48GAL003.021 Is the law then against the promises of God? God forbid: for if there had been a law given which could have given life, verily righteousness should have been by the law. %%% Kale amateeka tegatabagana n'ebyasuubizibwa Katonda? Kitalo: kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka. 48GAL003.022 But the scripture hath concluded all under sin, that the promise by faith of Jesus Christ might be given to them that believe. %%% Naye ebyawandiikibwa byabisiba byonna mu bufuge bw'ekibi, abakkiriza balyoke baweebwe ekyasuubizibwa ekiva mu kukkiriza Yesu Kristo. 48GAL003.023 But before faith came, we were kept under the law, shut up unto the faith which should afterwards be revealed. %%% Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa. 48GAL003.024 Wherefore the law was our schoolmaster to bring us unto Christ, that we might be justified by faith. %%% Bwe kityo amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza. 48GAL003.025 But after that faith is come, we are no longer under a schoolmaster. %%% Naye okukkiriza bwe kumaze okujja, tetukyali mu bufuge bwa mutwazi. 48GAL003.026 For ye are all the children of God by faith in Christ Jesus. %%% Kubanga mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza, mu Kristo Yesu. 48GAL003.027 For as many of you as have been baptized into Christ have put on Christ. %%% Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo. 48GAL003.028 There is neither Jew nor Greek, there is neither bond nor free, there is neither male nor female: for ye are all one in Christ Jesus. %%% Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 48GAL003.029 And if ye be Christ's, then are ye Abraham's seed, and heirs according to the promise. %%% Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali. 48GAL004.001Now I say, That the heir, as long as he is a child, differeth nothing from a servant, though he be lord of all; %%% Naye njogera nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna; 48GAL004.002 But is under tutors and governors until the time appointed of the father. %%% naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda. 48GAL004.003 Even so we, when we were children, were in bondage under the elements of the world: %%% Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi: 48GAL004.004 But when the fulness of the time was come, God sent forth his Son, made of a woman, made under the law, %%% naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, 48GAL004.005 To redeem them that were under the law, that we might receive the adoption of sons. %%% alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. 48GAL004.006 And because ye are sons, God hath sent forth the Spirit of his Son into your hearts, crying, Abba, Father. %%% Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe. 48GAL004.007 Wherefore thou art no more a servant, but a son; and if a son, then an heir of God through Christ. %%% Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda. 48GAL004.008 Howbeit then, when ye knew not God, ye did service unto them which by nature are no gods. %%% Naye mu nnaku ziri bwe mutaamanyanga Katonda, mwabanga baddu ba bali abatali bakatonda mu buwangwa: 48GAL004.009 But now, after that ye have known God, or rather are known of God, how turn ye again to the weak and beggarly elements, whereunto ye desire again to be in bondage? %%% naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri? 48GAL004.010 Ye observe days, and months, and times, and years. %%% Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka. 48GAL004.011 I am afraid of you, lest I have bestowed upon you labour in vain. %%% Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere. 48GAL004.012 Brethren, I beseech you, be as I am; for I am as ye are: ye have not injured me at all. %%% Mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, ab'oluganda mbeegayiridde. Temunnyonoonanga: 48GAL004.013 Ye know how through infirmity of the flesh I preached the gospel unto you at the first. %%% naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira enjiri omulundi ogw'olubereberye: 48GAL004.014 And my temptation which was in my flesh ye despised not, nor rejected; but received me as an angel of God, even as Christ Jesus. %%% era okukemebwa kwammwe okw'omu mubiri gwange temwakunyooma so temwakulondoola, naye mwanzikiriza nga malayika owa Katonda, nga Kristo Yesu. 48GAL004.015 Where is then the blessedness ye spake of? for I bear you record, that, if it had been possible, ye would have plucked out your own eyes, and have given them to me. %%% Kale okwetenda kwammwe kuli luuyi wa? kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze. 48GAL004.016 Am I therefore become your enemy, because I tell you the truth? %%% Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima? 48GAL004.017 They zealously affect you, but not well; yea, they would exclude you, that ye might affect them. %%% Beegonza gye muli naye si bulungi; naye kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gye bali: 48GAL004.018 But it is good to be zealously affected always in a good thing, and not only when I am present with you. %%% Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka. 48GAL004.019 My little children, of whom I travail in birth again until Christ be formed in you, %%% Abaana bange abato, abannuma nate okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe, 48GAL004.020 I desire to be present with you now, and to change my voice; for I stand in doubt of you. %%% era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okuwaanyisa eddoboozi lyange, kubanga mbuusabuusa olw'ebigambo byammwe. 48GAL004.021 Tell me, ye that desire to be under the law, do ye not hear the law? %%% Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka? 48GAL004.022 For it is written, that Abraham had two sons, the one by a bondmaid, the other by a freewoman. %%% Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omu wa wa ddembe. 48GAL004.023 But he who was of the bondwoman was born after the flesh; but he of the freewoman was by promise. %%% Naye ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza. 48GAL004.024 Which things are an allegory: for these are the two covenants; the one from the mount Sinai, which gendereth to bondage, which is Agar. %%% Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ezaala olw'obuddu, eyo ye Agali. 48GAL004.025 For this Agar is mount Sinai in Arabia, and answereth to Jerusalem which now is, and is in bondage with her children. %%% Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be. 48GAL004.026 But Jerusalem which is above is free, which is the mother of us all. %%% Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe. 48GAL004.027 For it is written, Rejoice, thou barren that bearest not; break forth and cry, thou that travailest not: for the desolate hath many more children than she which hath an husband. %%% Kubanga kyawandiikibwa nti Sanyuka, omugumba atazaala; Baguka okwogerera waggulu, atalumwa: Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja: 48GAL004.028 Now we, brethren, as Isaac was, are the children of promise. %%% Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kusuubiza nga Isaaka bwe yali. 48GAL004.029 But as then he that was born after the flesh persecuted him that was born after the Spirit, even so it is now. %%% Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo ne kaakano. 48GAL004.030 Nevertheless what saith the scripture? Cast out the bondwoman and her son: for the son of the bondwoman shall not be heir with the son of the freewoman. %%% Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w’omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe. 48GAL004.031 So then, brethren, we are not children of the bondwoman, but of the free. %%% Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye ba wa ddembe. 48GAL005.001 Stand fast therefore in the liberty wherewith Christ hath made us free, and be not entangled again with the yoke of bondage. %%% Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu. 48GAL005.002 Behold, I Paul say unto you, that if ye be circumcised, Christ shall profit you nothing. %%% Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwanga, Kristo talibaako ky'alibagasa. 48GAL005.003 For I testify again to every man that is circumcised, that he is a debtor to do the whole law. %%% Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byotuna. 48GAL005.004 Christ is become of no effect unto you, whosoever of you are justified by the law; ye are fallen from grace. %%% Mwawuliddwa eri Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa. 48GAL005.005 For we through the Spirit wait for the hope of righteousness by faith. %%% Kubanga ffe ku bw'Omwoyo olw'okukkiriza tulindirira essuubi ery'obutuukirivu. 48GAL005.006 For in Jesus Christ neither circumcision availeth any thing, nor uncircumcision; but faith which worketh by love. 48GAL005.006 Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa tekulina maanyi newakubadde obutakomolebwa, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala. 48GAL005.007 Ye did run well; who did hinder you that ye should not obey the truth? %%% Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima? 48GAL005.008 This persuasion cometh not of him that calleth you. %%% Okuwemba okwo tekwava eri oyo abayita. 48GAL005.009 A little leaven leaveneth the whole lump. %%% Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 48GAL005.010 I have confidence in you through the Lord, that ye will be none otherwise minded: but he that troubleth you shall bear his judgment, whosoever he be. %%% Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani. 48GAL005.011 And I, brethren, if I yet preach circumcision, why do I yet suffer persecution? then is the offence of the cross ceased. %%% Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo. 48GAL005.012 I would they were even cut off which trouble you. %%% Nnandyagadde bali abababuguutanya n'okweyawula beeyawule. 48GAL005.013 For, brethren, ye have been called unto liberty; only use not liberty for an occasion to the flesh, but by love serve one another. %%% Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye eddembe lyammwe liremenga okubeera omubiri kwe guyima, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka. 48GAL005.014 For all the law is fulfilled in one word, even in this; Thou shalt love thy neighbour as thyself. %%% Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka. 48GAL005.015 But if ye bite and devour one another, take heed that ye be not consumed one of another. %%% Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka. 48GAL005.016 This I say then, Walk in the Spirit, and ye shall not fulfil the lust of the flesh. %%% Naye njogera nti Mutambulirenga mu Mwoyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri. 48GAL005.017 For the flesh lusteth against the Spirit, and the Spirit against the flesh: and these are contrary the one to the other: so that ye cannot do the things that ye would. %%% Kubanga omubiri gwegomba nga guwakana n'Omwoyo, n'Omwoyo nga guwakana n'omubiri; kubanga ebyo byolekanye, mulemenga okukola ebyo bye mwagala. 48GAL005.018 But if ye be led of the Spirit, ye are not under the law. %%% Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka. 48GAL005.019 Now the works of the flesh are manifest, which are these; Adultery, fornication, uncleanness, lasciviousness, %%% Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, empitambi, obukaba, 48GAL005.020 Idolatry, witchcraft, hatred, variance, emulations, wrath, strife, seditions, heresies, %%% okusinza ebifaananyi, okuloga; obulabe, okuyomba; obuggya; obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, 48GAL005.021 Envyings, murders, drunkenness, revellings, and such like: of the which I tell you before, as I have also told you in time past, that they which do such things shall not inherit the kingdom of God. %%% ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. 48GAL005.022 But the fruit of the Spirit is love, joy, peace, longsuffering, gentleness, goodness, faith, %%% Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, 48GAL005.023 Meekness, temperance: against such there is no law. %%% obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka. 48GAL005.024 And they that are Christ's have crucified the flesh with the affections and lusts. %%% N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'okukwatibwa n'okwegomba kwagwo. 48GAL005.025 If we live in the Spirit, let us also walk in the Spirit. %%% Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo. 48GAL005.026 Let us not be desirous of vain glory, provoking one another, envying one another. %%% Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka. 48GAL006.001 Brethren, if a man be overtaken in a fault, ye which are spiritual, restore such an one in the spirit of meekness; considering thyself, lest thou also be tempted. %%% Ab'oluganda, omuntu bw'alabibwanga ng'ayonoonye; mmwe ab'omwoyo mumulongoosenga ali bw'atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa. 48GAL006.002 Bear ye one another's burdens, and so fulfil the law of Christ. %%% Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo. 48GAL006.003 For if a man think himself to be something, when he is nothing, he deceiveth himself. %%% Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba. 48GAL006.004 But let every man prove his own work, and then shall he have rejoicing in himself alone, and not in another. %%% Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe; alyoke abeere n'okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala. 48GAL006.005 For every man shall bear his own burden. %%% Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye. 48GAL006.006 Let him that is taught in the word communicate unto him that teacheth in all good things. %%% Naye ayigirizibwanga ekigambo assenga ekimu n'oyo ayigiriza mu birungi byonna. 48GAL006.007 Be not deceived; God is not mocked: for whatsoever a man soweth, that shall he also reap. %%% Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula. 48GAL006.008 For he that soweth to his flesh shall of the flesh reap corruption; but he that soweth to the Spirit shall of the Spirit reap life everlasting. %%% Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo. 48GAL006.009 And let us not be weary in well doing: for in due season we shall reap, if we faint not. %%% Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula; nga tetuzirise. 48GAL006.010 As we have therefore opportunity, let us do good unto all men, especially unto them who are of the household of faith. %%% Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza. 48GAL006.011 Ye see how large a letter I have written unto you with mine own hand. %%% Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n'omukono gwange nze. 48GAL006.012 As many as desire to make a fair shew in the flesh, they constrain you to be circumcised; only lest they should suffer persecution for the cross of Christ. %%% Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga; kyokka balemenga okuyigganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo. 48GAL006.013 For neither they themselves who are circumcised keep the law; but desire to have you circumcised, that they may glory in your flesh. %%% Kubanga era n'abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe. 48GAL006.014 But God forbid that I should glory, save in the cross of our Lord Jesus Christ, by whom the world is crucified unto me, and I unto the world. %%% Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula ku musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi. 48GAL006.015 For in Christ Jesus neither circumcision availeth any thing, nor uncircumcision, but a new creature. %%% Kubanga okukomolebwa si kintu, newakubadde obutakomolebwa, wabula ekitonde ekiggya. 48GAL006.016 And as many as walk according to this rule, peace be on them, and mercy, and upon the Israel of God. %%% N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda. 48GAL006.017 From henceforth let no man trouble me: for I bear in my body the marks of the Lord Jesus. %%% Okutanula kaakano, omuntu yenna aleme okunteganyanga: kubanga ntwala enkovu za Yesu zisaliddwa ku mubiri gwange. 48GAL006.018 Brethren, the grace of our Lord Jesus Christ be with your spirit. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n'omwoyo gwammwe, ab'oluganda. Amiina. 49EPH001.001 Paul, an apostle of Jesus Christ by the will of God, to the saints which are at Ephesus, and to the faithful in Christ Jesus: %%% Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu: 49EPH001.002 Grace be to you, and peace, from God our Father, and from the Lord Jesus Christ. %%% ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 49EPH001.003 Blessed be the God and Father of our Lord Jesus Christ, who hath blessed us with all spiritual blessings in heavenly places in Christ: %%% Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuwa buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo: 49EPH001.004 According as he hath chosen us in him before the foundation of the world, that we should be holy and without blame before him in love: %%% nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala: 49EPH001.005 Having predestinated us unto the adoption of children by Jesus Christ to himself, according to the good pleasure of his will, %%% bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe, 49EPH001.006 To the praise of the glory of his grace, wherein he hath made us accepted in the beloved. %%% ekitiibwa ky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo omwagalwa: 49EPH001.007 In whom we have redemption through his blood, the forgiveness of sins, according to the riches of his grace; %%% eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli, 49EPH001.008 Wherein he hath abounded toward us in all wisdom and prudence; %%% kye yasukkiriza gye tuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna, 49EPH001.009 Having made known unto us the mystery of his will, according to his good pleasure which he hath purposed in himself: %%% bwe yatutegeeza ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, nga bwe yamalirira edda mu ye, 49EPH001.010 That in the dispensation of the fulness of times he might gather together in one all things in Christ, both which are in heaven, and which are on earth; even in him: %%% olw'obuwanika obw'omu biro ebituukirivu, okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi; 49EPH001.011 In whom also we have obtained an inheritance, being predestinated according to the purpose of him who worketh all things after the counsel of his own will: %%% mu oyo naffe mwe twafuukira obusika bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akoza byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe; 49EPH001.012 That we should be to the praise of his glory, who first trusted in Christ. %%% ffe tulyoke tubeere ettendo ly'ekitiibwa kye, ffe abaasooka okusuubira mu Kristo: 49EPH001.013 In whom ye also trusted, after that ye heard the word of truth, the gospel of your salvation: in whom also after that ye believed, ye were sealed with that holy Spirit of promise, %%% era nammwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa, 49EPH001.014 Which is the earnest of our inheritance until the redemption of the purchased possession, unto the praise of his glory. %%% gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe. 49EPH001.015 Wherefore I also, after I heard of your faith in the Lord Jesus, and love unto all the saints, %%% Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, era kwe mulaga eri abatukuvu bonna, 49EPH001.016 Cease not to give thanks for you, making mention of you in my prayers; %%% kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange; 49EPH001.017 That the God of our Lord Jesus Christ, the Father of glory, may give unto you the spirit of wisdom and revelation in the knowledge of him: %%% Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye; 49EPH001.018 The eyes of your understanding being enlightened; that ye may know what is the hope of his calling, and what the riches of the glory of his inheritance in the saints, %%% nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli, 49EPH001.019 And what is the exceeding greatness of his power to us-ward who believe, according to the working of his mighty power, %%% era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola, 49EPH001.020 Which he wrought in Christ, when he raised him from the dead, and set him at his own right hand in the heavenly places, %%% ge yakoza mu Kristo, bwe yamuzuukiza mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu, 49EPH001.021 Far above all principality, and power, and might, and dominion, and every name that is named, not only in this world, but also in that which is to come: %%% waggulu nnyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja: 49EPH001.022 And hath put all things under his feet, and gave him to be the head over all things to the church, %%% n'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa, 49EPH001.023 Which is his body, the fulness of him that filleth all in all. %%% gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna. 49EPH002.001 And you hath he quickened, who were dead in trespasses and sins; %%% Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe, 49EPH002.002 Wherein in time past ye walked according to the course of this world, according to the prince of the power of the air, the spirit that now worketh in the children of disobedience: %%% bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukolera kaakano mu baana abatawulira; 49EPH002.003 Among whom also we all had our conversation in times past in the lusts of our flesh, fulfilling the desires of the flesh and of the mind; and were by nature the children of wrath, even as others. %%% era naffe fenna be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala: 49EPH002.004 But God, who is rich in mercy, for his great love wherewith he loved us, %%% naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe, 49EPH002.005 Even when we were dead in sins, hath quickened us together with Christ, (by grace ye are saved;) %%% era ffe bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa), 49EPH002.006 And hath raised us up together, and made us sit together in heavenly places in Christ Jesus: %%% n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo Yesu: 49EPH002.007 That in the ages to come he might shew the exceeding riches of his grace in his kindness toward us through Christ Jesus. %%% mu mirembe egigenda okujja alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw'ekisa kye mu bulungi obuli gye tuli mu Kristo Yesu: 49EPH002.008 For by grace are ye saved through faith; and that not of yourselves: it is the gift of God: %%% kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: 49EPH002.009 Not of works, lest any man should boast. %%% tekwava mu bikolwa, amuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 49EPH002.010 For we are his workmanship, created in Christ Jesus unto good works, which God hath before ordained that we should walk in them. %%% Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu. 49EPH002.011 Wherefore remember, that ye being in time past Gentiles in the flesh, who are called Uncircumcision by that which is called the Circumcision in the flesh made by hands; %%% Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono; 49EPH002.012 That at that time ye were without Christ, being aliens from the commonwealth of Israel, and strangers from the covenants of promise, having no hope, and without God in the world: %%% nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannaggwanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi. 49EPH002.013 But now in Christ Jesus ye who sometimes were far off are made nigh by the blood of Christ. %%% Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo. 49EPH002.014 For he is our peace, who hath made both one, and hath broken down the middle wall of partition between us; %%% Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula, 49EPH002.015 Having abolished in his flesh the enmity, even the law of commandments contained in ordinances; for to make in himself of twain one new man, so making peace; %%% bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, tawuleti ey'ebiragiro ebiri mu mateeka; alyoke atonde mu ye yennyini abo bombi okubeera omuntu omu omuggya, okuleeta emirembe; 49EPH002.016 And that he might reconcile both unto God in one body by the cross, having slain the enmity thereby: %%% era alyoke atabaganye bombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo: 49EPH002.017 And came and preached peace to you which were afar off, and to them that were nigh. %%% n'ajja n'ababuulira enjiri ey'emirembe mmwe abaali ewala, n'emirembe abaali okumpi: 49EPH002.018 For through him we both have access by one Spirit unto the Father. %%% kubanga ku bw'oyo ffe fembi tulina okusembera kwaffe eri Kitaffe mu Mwoyo omu. 49EPH002.019 Now therefore ye are no more strangers and foreigners, but fellowcitizens with the saints, and of the household of God; %%% Kale bwe mutyo temukyali bannaggwanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda, 49EPH002.020 And are built upon the foundation of the apostles and prophets, Jesus Christ himself being the chief corner stone; %%% kubanga mwazimbibwa ku musingi be batume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini bw'ali ejjinja eddene ery'oku nsonda; 49EPH002.021 In whom all the building fitly framed together groweth unto an holy temple in the Lord: %%% mu oyo buli nnyumba yonna, bw'egattibwa obulungi, ekula okubeeranga yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe; 49EPH002.022 In whom ye also are builded together for an habitation of God through the Spirit. %%% mu oyo era nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo. 49EPH003.001 For this cause I Paul, the prisoner of Jesus Christ for you Gentiles, %%% Kale nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga, - 49EPH003.002 If ye have heard of the dispensation of the grace of God which is given me to you-ward: %%% oba mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa eri mmwe; 49EPH003.003 How that by revelation he made known unto me the mystery; (as I wrote afore in few words, %%% bwe nnategeezebwa ekyama mu kubikkulirwa, nga bwe nnawandiika edda mu bigambo ebitono, 49EPH003.004 Whereby, when ye read, ye may understand my knowledge in the mystery of Christ) %%% ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kya Kristo; 49EPH003.005 Which in other ages was not made known unto the sons of men, as it is now revealed unto his holy apostles and prophets by the Spirit; %%% ekitaategeezebwa mu mirembe egy'edda abaana b'abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo; 49EPH003.006 That the Gentiles should be fellowheirs, and of the same body, and partakers of his promise in Christ by the gospel: %%% ab'amawanga okubeera abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'enjiri, 49EPH003.007 Whereof I was made a minister, according to the gift of the grace of God given unto me by the effectual working of his power. %%% gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli. 49EPH003.008 Unto me, who am less than the least of all saints, is this grace given, that I should preach among the Gentiles the unsearchable riches of Christ; %%% Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka; 49EPH003.009 And to make all men see what is the fellowship of the mystery, which from the beginning of the world hath been hid in God, who created all things by Jesus Christ: %%% n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna; 49EPH003.010 To the intent that now unto the principalities and powers in heavenly places might be known by the church the manifold wisdom of God, %%% kaakano abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri ennyingi, 49EPH003.011 According to the eternal purpose which he purposed in Christ Jesus our Lord: %%% ng'okumalirira bwe kuli mu Kristo Yesu Mukama waffe: 49EPH003.012 In whom we have boldness and access with confidence by the faith of him. %%% mwe tuggya obuvumu bwaffe n'okusembera n'obugumu olw'okumukkiriza ye. 49EPH003.013 Wherefore I desire that ye faint not at my tribulations for you, which is your glory. %%% Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe. 49EPH003.014 For this cause I bow my knees unto the Father of our Lord Jesus Christ, %%% Kyenva nfukaamirira Kitaffe, 49EPH003.015 Of whom the whole family in heaven and earth is named, %%% buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya, 49EPH003.016 That he would grant you, according to the riches of his glory, to be strengthened with might by his Spirit in the inner man; %%% abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda: 49EPH003.017 That Christ may dwell in your hearts by faith; that ye, being rooted and grounded in love, %%% Kristo atuulenga mu mitima g'yammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala, 49EPH003.018 May be able to comprehend with all saints what is the breadth, and length, and depth, and height; %%% mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri, 49EPH003.019 And to know the love of Christ, which passeth knowledge, that ye might be filled with all the fulness of God. %%% n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda. 49EPH003.020 Now unto him that is able to do exceeding abundantly above all that we ask or think, according to the power that worketh in us, %%% Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe, 49EPH003.021 Unto him be glory in the church by Christ Jesus throughout all ages, world without end. Amen. %%% aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina. 49EPH004.001 I therefore, the prisoner of the Lord, beseech you that ye walk worthy of the vocation wherewith ye are called, %%% Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa, 49EPH004.002 With all lowliness and meekness, with longsuffering, forbearing one another in love; %%% n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana, 49EPH004.003 Endeavouring to keep the unity of the Spirit in the bond of peace. %%% nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe. 49EPH004.004 There is one body, and one Spirit, even as ye are called in one hope of your calling; %%% Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe; 49EPH004.005 One Lord, one faith, one baptism, %%% Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu, 49EPH004.006 One God and Father of all, who is above all, and through all, and in you all. %%% Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna. 49EPH004.007 But unto every one of us is given grace according to the measure of the gift of Christ. %%% Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri. 49EPH004.008 Wherefore he saith, When he ascended up on high, he led captivity captive, and gave gifts unto men. %%% Kyava ayogera nti Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo. 49EPH004.009 (Now that he ascended, what is it but that he also descended first into the lower parts of the earth? %%% (Naye ekigambo ekyo nti Yalinnya, kigamba ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi? 49EPH004.010 He that descended is the same also that ascended up far above all heavens, that he might fill all things.) %%% Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke atuukirize byonna.) 49EPH004.011 And he gave some, apostles; and some, prophets; and some, evangelists; and some, pastors and teachers; %%% Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza; 49EPH004.012 For the perfecting of the saints, for the work of the ministry, for the edifying of the body of Christ: %%% olw'okutuukiriza abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo: 49EPH004.013 Till we all come in the unity of the faith, and of the knowledge of the Son of God, unto a perfect man, unto the measure of the stature of the fulness of Christ: %%% okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo: 49EPH004.014 That we henceforth be no more children, tossed to and fro, and carried about with every wind of doctrine, by the sleight of men, and cunning craftiness, whereby they lie in wait to deceive; %%% tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba; 49EPH004.015 But speaking the truth in love, may grow up into him in all things, which is the head, even Christ: %%% naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo; 49EPH004.016 From whom the whole body fitly joined together and compacted by that which every joint supplieth, according to the effectual working in the measure of every part, maketh increase of the body unto the edifying of itself in love. %%% mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana. 49EPH004.017 This I say therefore, and testify in the Lord, that ye henceforth walk not as other Gentiles walk, in the vanity of their mind, %%% Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu, 49EPH004.018 Having the understanding darkened, being alienated from the life of God through the ignorance that is in them, because of the blindness of their heart: %%% nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, olw'okukakanyala okw'omutima gwabwe; 49EPH004.019 Who being past feeling have given themselves over unto lasciviousness, to work all uncleanness with greediness. %%% kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba. 49EPH004.020 But ye have not so learned Christ; %%% Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo; 49EPH004.021 If so be that ye have heard him, and have been taught by him, as the truth is in Jesus: %%% oba nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu: 49EPH004.022 That ye put off concerning the former conversation the old man, which is corrupt according to the deceitful lusts; %%% mu bigambo by'empisa ez'olubereberye, mmwe okwambula omuntu ow'edda, avunda olw'okwegomba okw'obulimba; 49EPH004.023 And be renewed in the spirit of your mind; %%% era okufuuka abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe, 49EPH004.024 And that ye put on the new man, which after God is created in righteousness and true holiness. %%% okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima. 49EPH004.025 Wherefore putting away lying, speak every man truth with his neighbour: for we are members one of another. %%% Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne: kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka. 49EPH004.026 Be ye angry, and sin not: let not the sun go down upon your wrath: %%% Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe: 49EPH004.027 Neither give place to the devil. %%% so temuwanga bbanga Setaani. 49EPH004.028 Let him that stole steal no more: but rather let him labour, working with his hands the thing which is good, that he may have to give to him that needeth. %%% Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga. 49EPH004.029 Let no corrupt communication proceed out of your mouth, but that which is good to the use of edifying, that it may minister grace unto the hearers. %%% Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa. 49EPH004.030 And grieve not the holy Spirit of God, whereby ye are sealed unto the day of redemption. %%% So temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa. 49EPH004.031 Let all bitterness, and wrath, and anger, and clamour, and evil speaking, be put away from you, with all malice: %%% Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna: 49EPH004.032 And be ye kind one to another, tenderhearted, forgiving one another, even as God for Christ's sake hath forgiven you. %%% era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo. 49EPH005.001 Be ye therefore followers of God, as dear children; %%% Kale mugobererenga Katonda, ng'abaana abaagalwa; 49EPH005.002 And walk in love, as Christ also hath loved us, and hath given himself for us an offering and a sacrifice to God for a sweetsmelling savour. %%% era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo era ssaddaaka eri Katonda okubeera evvumbe eriwunya obulungi. 49EPH005.003 But fornication, and all uncleanness, or covetousness, let it not be once named among you, as becometh saints; %%% Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu 49EPH005.004 Neither filthiness, nor foolish talking, nor jesting, which are not convenient: but rather giving of thanks. %%% newakubadde eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana: naye waakiri okwebazanga. 49EPH005.005 For this ye know, that no whoremonger, nor unclean person, nor covetous man, who is an idolater, hath any inheritance in the kingdom of Christ and of God. %%% Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mugwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 49EPH005.006 Let no man deceive you with vain words: for because of these things cometh the wrath of God upon the children of disobedience. %%% Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu: kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira. 49EPH005.007 Be not ye therefore partakers with them. %%% Kale temussanga kimu nabo; 49EPH005.008 For ye were sometimes darkness, but now are ye light in the Lord: walk as children of light: %%% kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe: mutambulenga ng'abaana b'omusana 49EPH005.009 (For the fruit of the Spirit is in all goodness and righteousness and truth;) %%% (kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima), 49EPH005.010 Proving what is acceptable unto the Lord. %%% nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri; 49EPH005.011 And have no fellowship with the unfruitful works of darkness, but rather reprove them. %%% so temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi; 49EPH005.012 For it is a shame even to speak of those things which are done of them in secret. %%% kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama. 49EPH005.013 But all things that are reproved are made manifest by the light: for whatsoever doth make manifest is light. %%% Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa: kubanga buli ekirabisibwa gwe musana. 49EPH005.014 Wherefore he saith, Awake thou that sleepest, and arise from the dead, and Christ shall give thee light. %%% Kyava ayogera nti Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira. 49EPH005.015 See then that ye walk circumspectly, not as fools, but as wise, %%% Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi; 49EPH005.016 Redeeming the time, because the days are evil. %%% nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi. 49EPH005.017 Wherefore be ye not unwise, but understanding what the will of the Lord is. %%% Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri. 49EPH005.018 And be not drunk with wine, wherein is excess; but be filled with the Spirit; %%% So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo; 49EPH005.019 Speaking to yourselves in psalms and hymns and spiritual songs, singing and making melody in your heart to the Lord; %%% nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe; 49EPH005.020 Giving thanks always for all things unto God and the Father in the name of our Lord Jesus Christ; %%% nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo; 49EPH005.021 Submitting yourselves one to another in the fear of God. %%% nga muwuliragananga mu kutya Kristo. 49EPH005.022 Wives, submit yourselves unto your own husbands, as unto the Lord. %%% Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. 49EPH005.023 For the husband is the head of the wife, even as Christ is the head of the church: and he is the saviour of the body. %%% Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini. 49EPH005.024 Therefore as the church is subject unto Christ, so let the wives be to their own husbands in every thing. %%% Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo. 49EPH005.025 Husbands, love your wives, even as Christ also loved the church, and gave himself for it; %%% Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo; 49EPH005.026 That he might sanctify and cleanse it with the washing of water by the word, %%% alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo, 49EPH005.027 That he might present it to himself a glorious church, not having spot, or wrinkle, or any such thing; but that it should be holy and without blemish. %%% alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu eteriiko bulema. 49EPH005.028 So ought men to love their wives as their own bodies. He that loveth his wife loveth himself. %%% Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka: 49EPH005.029 For no man ever yet hated his own flesh; but nourisheth and cherisheth it, even as the Lord the church: %%% kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa, agujjaajaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa; 49EPH005.030 For we are members of his body, of his flesh, and of his bones. %%% kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 49EPH005.031 For this cause shall a man leave his father and mother, and shall be joined unto his wife, and they two shall be one flesh. %%% Omuntu kyanaavaaga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu. 49EPH005.032 This is a great mystery: but I speak concerning Christ and the church. %%% Ekyama kino kikulu: naye njogera ku Kristo n'ekkanisa. 49EPH005.033 Nevertheless let every one of you in particular so love his wife even as himself; and the wife see that she reverence her husband. %%% Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi atyenga bba. 49EPH006.001 Children, obey your parents in the Lord: for this is right. %%% Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi. 49EPH006.002 Honour thy father and mother; which is the first commandment with promise; %%% Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza), 49EPH006.003 That it may be well with thee, and thou mayest live long on the earth. %%% olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi. 49EPH006.004 And, ye fathers, provoke not your children to wrath: but bring them up in the nurture and admonition of the Lord. %%% Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe. 49EPH006.005 Servants, be obedient to them that are your masters according to the flesh, with fear and trembling, in singleness of your heart, as unto Christ; %%% Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo; 49EPH006.006 Not with eyeservice, as menpleasers; but as the servants of Christ, doing the will of God from the heart; %%% si nga mu kuweereza okw'okungulu, ng'abaagala okusiimibwanga abantu; naye ng'abaddu ba Kristo, nga mukolanga n'omwoyo, Katonda by'ayagala, 49EPH006.007 With good will doing service, as to the Lord, and not to men: %%% nga muweerezanga n'okwagala nga Mukama waffe so si bantu: 49EPH006.008 Knowing that whatsoever good thing any man doeth, the same shall he receive of the Lord, whether he be bond or free. %%% nga mumanyil nti buli muntu ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe. 49EPH006.009 And, ye masters, do the same things unto them, forbearing threatening: knowing that your Master also is in heaven; neither is there respect of persons with him. %%% Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa: nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali. 49EPH006.010 Finally, my brethren, be strong in the Lord, and in the power of his might. %%% Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge. 49EPH006.011 Put on the whole armour of God, that ye may be able to stand against the wiles of the devil. %%% Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. 49EPH006.012 For we wrestle not against flesh and blood, but against principalities, against powers, against the rulers of the darkness of this world, against spiritual wickedness in high places. %%% Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu. 49EPH006.013 Wherefore take unto you the whole armour of God, that ye may be able to withstand in the evil day, and having done all, to stand. %%% Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira. 49EPH006.014 Stand therefore, having your loins girt about with truth, and having on the breastplate of righteousness; %%% Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu, 49EPH006.015 And your feet shod with the preparation of the gospel of peace; %%% era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe; 49EPH006.016 Above all, taking the shield of faith, wherewith ye shall be able to quench all the fiery darts of the wicked. %%% era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi. 49EPH006.017 And take the helmet of salvation, and the sword of the Spirit, which is the word of God: %%% Muweebwe ne sseppewo ey'obulokovu, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda: 49EPH006.018 Praying always with all prayer and supplication in the Spirit, and watching thereunto with all perseverance and supplication for all saints; %%% nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n’okwegayiriranga kwonna mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna, 49EPH006.019 And for me, that utterance may be given unto me, that I may open my mouth boldly, to make known the mystery of the gospel, %%% era nange ndyoke mpeebwe okwogeranga okwasamyanga akamwa kange, okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'enjiri, 49EPH006.020 For which I am an ambassador in bonds: that therein I may speak boldly, as I ought to speak. %%% gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu mu yo, nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga. 49EPH006.021 But that ye also may know my affairs, and how I do, Tychicus, a beloved brother and faithful minister in the Lord, shall make known to you all things: %%% Naye nammwe mulyoke mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe alibategeeza byonna: 49EPH006.022 Whom I have sent unto you for the same purpose, that ye might know our affairs, and that he might comfort your hearts. %%% gwe mbatumidde olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli, era abasanyuse emitima gyammwe. 49EPH006.023 Peace be to the brethren, and love with faith, from God the Father and the Lord Jesus Christ. %%% Emirembe gibenga eri ab'oluganda, n'okwagala awamu n'okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 49EPH006.024 Grace be with all them that love our Lord Jesus Christ in sincerity. Amen. %%% Ekisa kibeerenga n'abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo mu butamala. 50PHP001.001 Paul and Timotheus, the servants of Jesus Christ, to all the saints in Christ Jesus which are at Philippi, with the bishops and deacons: %%% Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, eri abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, wamu n'abalabirizi n'abaweereza: 50PHP001.002 Grace be unto you, and peace, from God our Father, and from the Lord Jesus Christ. %%% ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 50PHP001.003 I thank my God upon every remembrance of you, %%% Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 50PHP001.004 Always in every prayer of mine for you all making request with joy, %%% ennaku zonna buli lwe mbasabira mwenna nsaba n'essanyu, 50PHP001.005 For your fellowship in the gospel from the first day until now; %%% olw'okussa ekimu kwammwe okw'okubunya enjiri okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa kaakano; 50PHP001.006 Being confident of this very thing, that he which hath begun a good work in you will perform it until the day of Jesus Christ: %%% nga ntegeeredde ddala kino ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo: 50PHP001.007 Even as it is meet for me to think this of you all, because I have you in my heart; inasmuch as both in my bonds, and in the defence and confirmation of the gospel, ye all are partakers of my grace. %%% nga bwe kiri ekirungi nze okulowoozanga ekyo gye muli mwenna, kubanga ndi nammwe mu mutima gwange, bwe mussa ekimu mwenna awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga enjiri n'okuginywezanga. 50PHP001.008 For God is my record, how greatly I long after you all in the bowels of Jesus Christ. %%% Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, bwe mbalumirwa omwoyo mwenna mu kusaasira kwa Kristo Yesu. 50PHP001.009 And this I pray, that your love may abound yet more and more in knowledge and in all judgment; %%% Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga mu kutegeera n'okwawula kwonna: 50PHP001.010 That ye may approve things that are excellent; that ye may be sincere and without offence till the day of Christ; %%% mulyoke musiimenga ebisinga obulungi; mubeerenga abatalina bukuusa era abatalina kabi okutuusa ku lunaku lwa Kristo; 50PHP001.011 Being filled with the fruits of righteousness, which are by Jesus Christ, unto the glory and praise of God. %%% nga mujjudde ebibala eby'obutuukirivu, ebiriwo ku bwa Yesu Kristo, Katonda aweebwe ekitiibwa, atenderezebwe. 50PHP001.012 But I would ye should understand, brethren, that the things which happened unto me have fallen out rather unto the furtherance of the gospel; %%% Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byajja lwa kubunya bubunya enjiri; 50PHP001.013 So that my bonds in Christ are manifest in all the palace, and in all other places; %%% n'okusibibwa kwange ne kulyoka kulabika mu Kristo eri basserikale bonna aba kabaka, n'abalala bonna; 50PHP001.014 And many of the brethren in the Lord, waxing confident by my bonds, are much more bold to speak the word without fear. %%% n'ab'oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe ne balyoka baguma olw'okusibwa kwange ne beeyongeranga nnyo okwaŋŋanga okubuuliranga ekigambo kya Katonda nga tebatya. 50PHP001.015 Some indeed preach Christ even of envy and strife; and some also of good will: %%% Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'okuyomba; era n'abalala bamubuulira lwa kisa: 50PHP001.016 The one preach Christ of contention, not sincerely, supposing to add affliction to my bonds: %%% bano babuulira lwa kwagala, nga bamanyi nga nnateekebwawo lwa kuwolerezanga enjiri: 50PHP001.017 But the other of love, knowing that I am set for the defence of the gospel. %%% naye bali babuulira Kristo olw'okuyomba, si mu mazima, nga balowooza okundeetera ennaku mu kusibibwa kwange. 50PHP001.018 What then? notwithstanding, every way, whether in pretence, or in truth, Christ is preached; and I therein do rejoice, yea, and will rejoice. %%% Naye n'ekyo nsonga? wabula nga mu ngeri zonna, oba mu bukuusa oba mu mazima, Kristo abuulirwa; n'ekyo nkisanyukidde, weewaawo era ndisanyuka. 50PHP001.019 For I know that this shall turn to my salvation through your prayer, and the supply of the Spirit of Jesus Christ, %%% Kubanga mmanyi ng'ekyo kirinviiramu obulokozi olw'okusaba kwammwe n'okuweebwa Omwoyo wa Yesu Kristo, 50PHP001.020 According to my earnest expectation and my hope, that in nothing I shall be ashamed, but that with all boldness, as always, so now also Christ shall be magnified in my body, whether it be by life, or by death. %%% nga bwe ntunuulira ennyo ne nsuubira nga ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, wabula nga Kristo, ennaku zonna, era ne kaakano anaagulumizibwanga mu mubiri gwange mu buvumu bwonna, oba mu bulamu oba mu kufa. 50PHP001.021 For to me to live is Christ, and to die is gain. %%% Kubanga gye ndi okuba omulamu ye Kristo, n'okufa ge magoba. 50PHP001.022 But if I live in the flesh, this is the fruit of my labour: yet what I shall choose I wot not. %%% Naye oba ng'okuba omulamu mu mubiri, okwo nga kye kibala eky'omulimu gwange, kale ssimanyi kye nneeroboza. 50PHP001.023 For I am in a strait betwixt two, having a desire to depart, and to be with Christ; which is far better: %%% Naye nziyizibwa enjuyi zombiriri, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo; kubanga kwe kusinga ennyo nnyini: 50PHP001.024 Nevertheless to abide in the flesh is more needful for you. %%% naye okubeera mu mubiri kwe kusinga okwetaagibwa ku lwammwe. 50PHP001.025 And having this confidence, I know that I shall abide and continue with you all for your furtherance and joy of faith; %%% Era, kubanga ntegeeredde ddala bwe ntyo, mmanyi nga ndibeera, era ndibeera wamu nammwe mwenna, olw'okuyitirira kwammwe n'okusanyuka olw'okukkiriza: 50PHP001.026 That your rejoicing may be more abundant in Jesus Christ for me by my coming to you again. %%% okwenyumiriza kwammwe kulyoke kusukkirire mu Kristo Yesu ku bwange, nze olw'okujja gye muli nate. 50PHP001.027 Only let your conversation be as it becometh the gospel of Christ: that whether I come and see you, or else be absent, I may hear of your affairs, that ye stand fast in one spirit, with one mind striving together for the faith of the gospel; %%% Naye kyokka okutambula kwammwe kubeerenga nga bwe kigwanira enjiri ya Kristo: bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'enjiri n’emmeeme emu; 50PHP001.028 And in nothing terrified by your adversaries: which is to them an evident token of perdition, but to you of salvation, and that of God. %%% so nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna: ke kabonero ddala gye bali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, era obuva eri Katonda; 50PHP001.029 For unto you it is given in the behalf of Christ, not only to believe on him, but also to suffer for his sake; %%% kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo si kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe: 50PHP001.030 Having the same conflict which ye saw in me, and now hear to be in me. %%% nga mulina okulwana kuli kwe mwalaba gye ndi, era kwe muwulira kaakano okuli gye ndi. 50PHP002.001 If there be therefore any consolation in Christ, if any comfort of love, if any fellowship of the Spirit, if any bowels and mercies, %%% Kale oba nga waliwo okukubagiza kwonna mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonna okw'okwagala, oba ng'okussa ekimu kwonna okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa, 50PHP002.002 Fulfil ye my joy, that ye be likeminded, having the same love, being of one accord, of one mind. %%% mutuukirize essanyu lyange mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu nga mulowooza bumu; 50PHP002.003 Let nothing be done through strife or vainglory; but in lowliness of mind let each esteem other better than themselves. %%% temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka; 50PHP002.004 Look not every man on his own things, but every man also on the things of others. %%% temutunuuliranga buli muntu ebibyo yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala. 50PHP002.005 Let this mind be in you, which was also in Christ Jesus: %%% Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; 50PHP002.006 Who, being in the form of God, thought it not robbery to be equal with God: %%% oyo bwe yasooka, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, 50PHP002.007 But made himself of no reputation, and took upon him the form of a servant, and was made in the likeness of men: %%% naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu; 50PHP002.008 And being found in fashion as a man, he humbled himself, and became obedient unto death, even the death of the cross. %%% era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba. 50PHP002.009 Wherefore God also hath highly exalted him, and given him a name which is above every name: %%% Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; 50PHP002.010 That at the name of Jesus every knee should bow, of things in heaven, and things in earth, and things under the earth; %%% buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi, 50PHP002.011 And that every tongue should confess that Jesus Christ is Lord, to the glory of God the Father. %%% era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa. 50PHP002.012 Wherefore, my beloved, as ye have always obeyed, not as in my presence only, but now much more in my absence, work out your own salvation with fear and trembling. %%% Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana; 50PHP002.013 For it is God which worketh in you both to will and to do of his good pleasure. %%% kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n'okukola, olw'okusiima kwe okulungi. 50PHP002.014 Do all things without murmurings and disputings: %%% Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka; 50PHP002.015 That ye may be blameless and harmless, the sons of God, without rebuke, in the midst of a crooked and perverse nation, among whom ye shine as lights in the world; %%% mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi, 50PHP002.016 Holding forth the word of life; that I may rejoice in the day of Christ, that I have not run in vain, neither laboured in vain. %%% nga mwolesa ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, kubanga ssaddukira bwereere, so ssaafubira bwereere. 50PHP002.017 Yea, and if I be offered upon the sacrifice and service of your faith, I joy, and rejoice with you all. %%% Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nanmwe mwenna: 50PHP002.018 For the same cause also do ye joy, and rejoice with me. %%% era nammwe bwe mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange. 50PHP002.019 But I trust in the Lord Jesus to send Timotheus shortly unto you, that I also may be of good comfort, when I know your state. %%% Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli. 50PHP002.020 For I have no man likeminded, who will naturally care for your state. %%% Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima. 50PHP002.021 For all seek their own, not the things which are Jesus Christ's. %%% Kubanga bo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo. 50PHP002.022 But ye know the proof of him, that, as a son with the father, he hath served with me in the gospel. %%% Naye ekimutegeezesa mukimanyi, nga aweerezanga wamu nange olw'enjiri, ng'omwana eri kitaawe. 50PHP002.023 Him therefore I hope to send presently, so soon as I shall see how it will go with me. %%% Kale oyo nsuubira okumutuma amangu, kyokka bwe ndimala okulaba ebifa gye ndi: 50PHP002.024 But I trust in the Lord that I also myself shall come shortly. %%% naye nsuubira mu Mukama waffe nti nange ndijja mangu. 50PHP002.025 Yet I supposed it necessary to send to you Epaphroditus, my brother, and companion in labour, and fellowsoldier, but your messenger, and he that ministered to my wants. %%% Naye nnalaba nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga; 50PHP002.026 For he longed after you all, and was full of heaviness, because that ye had heard that he had been sick. %%% kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nnyo, kubanga mwawulira nga yalwala: 50PHP002.027 For indeed he was sick nigh unto death: but God had mercy on him; and not on him only, but on me also, lest I should have sorrow upon sorrow. %%% kubanga okulwala yalwala yali kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku endala zireme okweyongera ku nnaku ze nnina. 50PHP002.028 I sent him therefore the more carefully, that, when ye see him again, ye may rejoice, and that I may be the less sorrowful. %%% Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyoke musanyuke, nange nkendeeze ku kunakuwala kwange. 50PHP002.029 Receive him therefore in the Lord with all gladness; and hold such in reputation: %%% Kale mumwanirizanga mu Mukama waffe n'essanyu lyonna; era abafaanana oyo mubassengamu ekitiibwa: 50PHP002.030 Because for the work of Christ he was nigh unto death, not regarding his life, to supply your lack of service toward me. %%% kubanga yabulako katono afe olw'omulimu gwa Kristo, bwe yasingawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi. 50PHP003.001 Finally, my brethren, rejoice in the Lord. To write the same things to you, to me indeed is not grievous, but for you it is safe. %%% Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga Mukama waffe. Okubawandiikira ebimu tekunkonya nze, naye kuleeta mirembe gye muli. 50PHP003.002 Beware of dogs, beware of evil workers, beware of the concision. %%% Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakozi ababi, mwekuumenga abeesala: 50PHP003.003 For we are the circumcision, which worship God in the spirit, and rejoice in Christ Jesus, and have no confidence in the flesh. %%% kubanga ffe tuli abeekomola, abasinza ku bw'Omwoyo gwa Katonda, abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri: 50PHP003.004 Though I might also have confidence in the flesh. If any other man thinketh that he hath whereof he might trust in the flesh, I more: %%% newakubadde nga nze nnyinza n'okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw'alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga: 50PHP003.005 Circumcised the eighth day, of the stock of Israel, of the tribe of Benjamin, an Hebrew of the Hebrews; as touching the law, a Pharisee; %%% nze eyakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka Mufalisaayo; 50PHP003.006 Concerning zeal, persecuting the church; touching the righteousness which is in the law, blameless. %%% mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa. 50PHP003.007 But what things were gain to me, those I counted loss for Christ. %%% Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo. 50PHP003.008 Yea doubtless, and I count all things but loss for the excellency of the knowledge of Christ Jesus my Lord: for whom I have suffered the loss of all things, and do count them but dung, that I may win Christ, %%% Naye era n'ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw'obulungi obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo, 50PHP003.009 And be found in him, not having mine own righteousness, which is of the law, but that which is through the faith of Christ, the righteousness which is of God by faith: %%% era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina buruukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza: 50PHP003.010 That I may know him, and the power of his resurrection, and the fellowship of his sufferings, being made conformable unto his death; %%% ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe n'okussa ekimu okw'ebibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe; 50PHP003.011 If by any means I might attain unto the resurrection of the dead. %%% bwe ndiyinza mu byonna byonna okutuuka ku kuzuukira kwe okuva mu bafu. 50PHP003.012 Not as though I had already attained, either were already perfect: but I follow after, if that I may apprehend that for which also I am apprehended of Christ Jesus. %%% Si kugamba nti mmaze okuweebwa oba nti mmaze okutuukirizibwa: naye ngoberera era ndyoke nkikwate ekyo kye yankwatira Kristo Yesu. 50PHP003.013 Brethren, I count not myself to have apprehended: but this one thing I do, forgetting those things which are behind, and reaching forth unto those things which are before, %%% Ab'oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, 50PHP003.014 I press toward the mark for the prize of the high calling of God in Christ Jesus. %%% nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu. 50PHP003.015 Let us therefore, as many as be perfect, be thus minded: and if in any thing ye be otherwise minded, God shall reveal even this unto you. %%% Kale ffe fenna abaatuukirira, tulowoozenga ekyo: era bwe mulowooza ebirala mu kigambo kyonna, era Katonda alibabikkulira n’ekyo: 50PHP003.016 Nevertheless, whereto we have already attained, let us walk by the same rule, let us mind the same thing. %%% naye kyokka, kye tutuuseeko, tutambulirenga mu ekyo. 50PHP003.017 Brethren, be followers together of me, and mark them which walk so as ye have us for an ensample. %%% Ab'oluganda, mukkiriziganye wamu mungobererenga, era mulabirenga ku abo abatambula nga bwe mulina ffe okuba ekyokulabirako. 50PHP003.018 (For many walk, of whom I have told you often, and now tell you even weeping, that they are the enemies of the cross of Christ: %%% Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo: 50PHP003.019 Whose end is destruction, whose God is their belly, and whose glory is in their shame, who mind earthly things.) %%% enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi. 50PHP003.020 For our conversation is in heaven; from whence also we look for the Saviour, the Lord Jesus Christ: %%% Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo: 50PHP003.021 Who shall change our vile body, that it may be fashioned like unto his glorious body, according to the working whereby he is able even to subdue all things unto himself. %%% aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we. 50PHP004.001 Therefore, my brethren dearly beloved and longed for, my joy and crown, so stand fast in the Lord, my dearly beloved. %%% Kale, baganda bange abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa. 50PHP004.002 I beseech Euodias, and beseech Syntyche, that they be of the same mind in the Lord. %%% Mbuulirira Ewodiya, era mbuulirira Suntuke, balowoozenga bumu mu Mukama waffe. 50PHP004.003 And I intreat thee also, true yokefellow, help those women which laboured with me in the gospel, with Clement also, and with other my fellowlabourers, whose names are in the book of life. %%% Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde obeerenga abakazi abo, kubanga baakolanga emirimu wamu nange mu njiri, era ne Kulementi, n’abalala bakozi bannange, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu. 50PHP004.004 Rejoice in the Lord alway: and again I say, Rejoice. %%% Musanyukirenga Mukama waffe ennaku zonna: nate njogera nti Musanyukenga. 50PHP004.005 Let your moderation be known unto all men. The Lord is at hand. %%% Okuzibiikiriza kwammwe kumanyibwenga abantu bonna. Mukama waffe ali kumpi. 50PHP004.006 Be careful for nothing; but in every thing by prayer and supplication with thanksgiving let your requests be made known unto God. %%% Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. 50PHP004.007 And the peace of God, which passeth all understanding, shall keep your hearts and minds through Christ Jesus. %%% N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu. 50PHP004.008 Finally, brethren, whatsoever things are true, whatsoever things are honest, whatsoever things are just, whatsoever things are pure, whatsoever things are lovely, whatsoever things are of good report; if there be any virtue, and if there be any praise, think on these things. %%% Ebisigaddeyo, ab'oluganda, eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga. 50PHP004.009 Those things, which ye have both learned, and received, and heard, and seen in me, do: and the God of peace shall be with you. %%% Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe. 50PHP004.010 But I rejoiced in the Lord greatly, that now at the last your care of me hath flourished again; wherein ye were also careful, but ye lacked opportunity. %%% Naye nsanyukidde nnyo Mukama waffe kubanga kaakano kye mujje musibuke okulowooza ebyange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga. 50PHP004.011 Not that I speak in respect of want: for I have learned, in whatsoever state I am, therewith to be content. %%% Si kubanga njogera olw'okwetaaga: kubanga nnayiga, embeera gye mbaamu yonna, obutabaako kye nneetaaga. 50PHP004.012 I know both how to be abased, and I know how to abound: every where and in all things I am instructed both to be full and to be hungry, both to abound and to suffer need. %%% Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu. 50PHP004.013 I can do all things through Christ which strengtheneth me. %%% Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi. 50PHP004.014 Notwithstanding ye have well done, that ye did communicate with my affliction. %%% Naye mwakola bulungi okussa ekimu n'ebibonoobono byange. 50PHP004.015 Now ye Philippians know also, that in the beginning of the gospel, when I departed from Macedonia, no church communicated with me as concerning giving and receiving, but ye only. %%% Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga mu kusooka kw'enjiri, bwe nnava mu Makedoni, nga siwali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka; 50PHP004.016 For even in Thessalonica ye sent once and again unto my necessity. %%% kubanga era ne mu Ssessaloniika mwaweereza omulundi gumu, era n'ogw'okubiri, olw'okwetaaga kwange. 50PHP004.017 Not because I desire a gift: but I desire fruit that may abound to your account. %%% Si kubanga nnoonya kirabo; naye nnoonya bibala ebyeyongera ku muwendo gwammwe. 50PHP004.018 But I have all, and abound: I am full, having received of Epaphroditus the things which were sent from you, an odour of a sweet smell, a sacrifice acceptable, wellpleasing to God. %%% Naye nnina ebintu byonna, ne nsukkirira: nzikuse, bwe nnamala okuweebwa Epafulodito ebyava gye muli, evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda. 50PHP004.019 But my God shall supply all your need according to his riches in glory by Christ Jesus. %%% Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe bwe buli mu kitiibwa mu Kristo Yesu. 50PHP004.020 Now unto God and our Father be glory for ever and ever. Amen. %%% Era Katonda era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. 50PHP004.021 Salute every saint in Christ Jesus. The brethren which are with me greet you. %%% Mulamuse buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nange babalamusizza. 50PHP004.022 All the saints salute you, chiefly they that are of Caesar's household. %%% Abatukuvu bonna babalamusizza, naye okusinga ab'omu nnyumba ya Kayisaali. 50PHP004.023 The grace of our Lord Jesus Christ be with you all. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. 51COL001.001 Paul, an apostle of Jesus Christ by the will of God, and Timotheus our brother, %%% Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, 51COL001.002 To the saints and faithful brethren in Christ which are at Colosse: Grace be unto you, and peace, from God our Father and the Lord Jesus Christ. %%% era abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe. 51COL001.003 We give thanks to God and the Father of our Lord Jesus Christ, praying always for you, %%% Twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira ennaku zonna, 51COL001.004 Since we heard of your faith in Christ Jesus, and of the love which ye have to all the saints, %%% bwe twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna, 51COL001.005 For the hope which is laid up for you in heaven, whereof ye heard before in the word of the truth of the gospel; %%% olw'essuubi eryaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'enjiri, 51COL001.006 Which is come unto you, as it is in all the world; and bringeth forth fruit, as it doth also in you, since the day ye heard of it, and knew the grace of God in truth: %%% eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya 51COL001.007 As ye also learned of Epaphras our dear fellowservant, who is for you a faithful minister of Christ; %%% Katonda mu mazima; nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu mu nnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe, 51COL001.008 Who also declared unto us your love in the Spirit. %%% era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo. 51COL001.009 For this cause we also, since the day we heard it, do not cease to pray for you, and to desire that ye might be filled with the knowledge of his will in all wisdom and spiritual understanding; %%% Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n'okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo, 51COL001.010 That ye might walk worthy of the Lord unto all pleasing, being fruitful in every good work, and increasing in the knowledge of God; %%% okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw'okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda; 51COL001.011 Strengthened with all might, according to his glorious power, unto all patience and longsuffering with joyfulness; %%% nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonna, ng'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka; 51COL001.012 Giving thanks unto the Father, which hath made us meet to be partakers of the inheritance of the saints in light: %%% nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana, 51COL001.013 Who hath delivered us from the power of darkness, and hath translated us into the kingdom of his dear Son: %%% eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omwagalwa; 51COL001.014 In whom we have redemption through his blood, even the forgiveness of sins: %%% mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe: 51COL001.015 Who is the image of the invisible God, the firstborn of every creature: %%% oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna; 51COL001.016 For by him were all things created, that are in heaven, and that are in earth, visible and invisible, whether they be thrones, or dominions, or principalities, or powers: all things were created by him, and for him: %%% kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe; 51COL001.017 And he is before all things, and by him all things consist. %%% naye ye w'olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye. 51COL001.018 And he is the head of the body, the church: who is the beginning, the firstborn from the dead; that in all things he might have the preeminence. %%% Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, emubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga ow'olubereberye mu byonna. 51COL001.019 For it pleased the Father that in him should all fulness dwell; %%% Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye; 51COL001.020 And, having made peace through the blood of his cross, by him to reconcile all things unto himself; by him, I say, whether they be things in earth, or things in heaven. %%% n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu. 51COL001.021 And you, that were sometime alienated and enemies in your mind by wicked works, yet now hath he reconciled %%% Nammwe, bwe mwali edda bannaggwanga era abalabe mu kulowooza kwammwe mu bikolwa ebibi, naye kaakano yabatabaganyisa 51COL001.022 In the body of his flesh through death, to present you holy and unblameable and unreproveable in his sight: %%% mu mubiri ogw'ennyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyezebwa mu maaso ge: 51COL001.023 If ye continue in the faith grounded and settled, and be not moved away from the hope of the gospel, which ye have heard, and which was preached to every creature which is under heaven; whereof I Paul am made a minister; %%% bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo. 51COL001.024 Who now rejoice in my sufferings for you, and fill up that which is behind of the afflictions of Christ in my flesh for his body's sake, which is the church: %%% Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa; 51COL001.025 Whereof I am made a minister, according to the dispensation of God which is given to me for you, to fulfil the word of God; %%% nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda, 51COL001.026 Even the mystery which hath been hid from ages and from generations, but now is made manifest to his saints: %%% ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be, 51COL001.027 To whom God would make known what is the riches of the glory of this mystery among the Gentiles; which is Christ in you, the hope of glory: %%% Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa eky'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa: 51COL001.028 Whom we preach, warning every man, and teaching every man in all wisdom; that we may present every man perfect in Christ Jesus: %%% gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo; 51COL001.029 Whereunto I also labour, striving according to his working, which worketh in me mightily. %%% n'okufuba kye nfubira era, nga mpakana ng'okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n'amaanyi. 51COL002.001 For I would that ye knew what great conflict I have for you, and for them at Laodicea, and for as many as have not seen my face in the flesh; %%% Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri; 51COL002.002 That their hearts might be comforted, being knit together in love, and unto all riches of the full assurance of understanding, to the acknowledgement of the mystery of God, and of the Father, and of Christ; %%% emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo, 51COL002.003 In whom are hid all the treasures of wisdom and knowledge. %%% omuli obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera nga bukwekeddwa. 51COL002.004 And this I say, lest any man should beguile you with enticing words. %%% Ekyo kye njogera nti omuntu yenna alemenga okubalimbalimba mu bigambo eby'okusendasenda. 51COL002.005 For though I be absent in the flesh, yet am I with you in the spirit, joying and beholding your order, and the stedfastness of your faith in Christ. %%% Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo. 51COL002.006 As ye have therefore received Christ Jesus the Lord, so walk ye in him: %%% Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye, 51COL002.007 Rooted and built up in him, and stablished in the faith, as ye have been taught, abounding therein with thanksgiving. %%% nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza. 51COL002.008 Beware lest any man spoil you through philosophy and vain deceit, after the tradition of men, after the rudiments of the world, and not after Christ. %%% Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo 51COL002.009 For in him dwelleth all the fulness of the Godhead bodily. %%% kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'obwakatonda ng'omubiri bwe guli, 51COL002.010 And ye are complete in him, which is the head of all principality and power: %%% era mwatuukiririra mu ye, gwe mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonna 51COL002.011 In whom also ye are circumcised with the circumcision made without hands, in putting off the body of the sins of the flesh by the circumcision of Christ: %%% era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw'ennyama, mu kukomolebwa kwa Kristo; 51COL002.012 Buried with him in baptism, wherein also ye are risen with him through the faith of the operation of God, who hath raised him from the dead. %%% bwe mwaziikirwa awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriramu olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu. 51COL002.013 And you, being dead in your sins and the uncircumcision of your flesh, hath he quickened together with him, having forgiven you all trespasses; %%% Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna; 51COL002.014 Blotting out the handwriting of ordinances that was against us, which was contrary to us, and took it out of the way, nailing it to his cross; %%% n'okusangula endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n’agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba: 51COL002.015 And having spoiled principalities and powers, he made a shew of them openly, triumphing over them in it. %%% bwe yayambulira ddala obwami n’amasaza, n'abiwemuukiriza mu lwatu, bwe yabiwangulira ku gwo. 51COL002.016 Let no man therefore judge you in meat, or in drink, or in respect of an holyday, or of the new moon, or of the sabbath days: %%% Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti: 51COL002.017 Which are a shadow of things to come; but the body is of Christ. %%% ebyo kye kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo. 51COL002.018 Let no man beguile you of your reward in a voluntary humility and worshipping of angels, intruding into those things which he hath not seen, vainly puffed up by his fleshly mind, %%% Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe, 51COL002.019 And not holding the Head, from which all the body by joints and bands having nourishment ministered, and knit together, increaseth with the increase of God. %%% so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda. 51COL002.020 Wherefore if ye be dead with Christ from the rudiments of the world, why, as though living in the world, are ye subject to ordinances, %%% Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka eby'olubereberye eby'ensi, kiki ekibeeteesa wansi w'amateeka, ng'abakyali abalamu mu nsi nti 51COL002.021 (Touch not; taste not; handle not; %%% Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako 51COL002.022 Which all are to perish with the using;) after the commandments and doctrines of men? %%% (ebyo byonna biggweerawo mu kukolebwa) okugobereranga ebiragiro n'okuyigiriza eby'abantu? 51COL002.023 Which things have indeed a shew of wisdom in will worship, and humility, and neglecting of the body; not in any honour to the satisfying of the flesh. %%% Ebyo birina ddala ekifaananyi eky'amagezi mu kusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono olw'okwegomba kw'omubiri. 51COL003.001 If ye then be risen with Christ, seek those things which are above, where Christ sitteth on the right hand of God. %%% Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 51COL003.002 Set your affection on things above, not on things on the earth. %%% Mulowoozenga ebiri waggulu, so si ebiri ku nsi. 51COL003.003 For ye are dead, and your life is hid with Christ in God. %%% Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda. 51COL003.004 When Christ, who is our life, shall appear, then shall ye also appear with him in glory. %%% Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa. 51COL003.005 Mortify therefore your members which are upon the earth; fornication, uncleanness, inordinate affection, evil concupiscence, and covetousness, which is idolatry: %%% Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi; 51COL003.006 For which things' sake the wrath of God cometh on the children of disobedience: %%% olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira; 51COL003.007 In the which ye also walked some time, when ye lived in them. %%% era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwali abalamu mu byo. 51COL003.008 But now ye also put off all these; anger, wrath, malice, blasphemy, filthy communication out of your mouth. %%% Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe: 51COL003.009 Lie not one to another, seeing that ye have put off the old man with his deeds; %%% temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, 51COL003.010 And have put on the new man, which is renewed in knowledge after the image of him that created him: %%% ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda: 51COL003.011 Where there is neither Greek nor Jew, circumcision nor uncircumcision, Barbarian, Scythian, bond nor free: but Christ is all, and in all. %%% awo tewayinza kubeerawo Muyonaani n'Omuyudaaya, okukomolwa n'obutakomolwa, munnaggwanga, Omusukusi, omuddu, ow'eddembe: naye Kristo bye bintu byonna ne mu byonna. 51COL003.012 Put on therefore, as the elect of God, holy and beloved, bowels of mercies, kindness, humbleness of mind, meekness, longsuffering; %%% Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; 51COL003.013 Forbearing one another, and forgiving one another, if any man have a quarrel against any: even as Christ forgave you, so also do ye. %%% nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: 51COL003.014 And above all these things put on charity, which is the bond of perfectness. %%% ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira. 51COL003.015 And let the peace of God rule in your hearts, to the which also ye are called in one body; and be ye thankful. %%% Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza. 51COL003.016 Let the word of Christ dwell in you richly in all wisdom; teaching and admonishing one another in psalms and hymns and spiritual songs, singing with grace in your hearts to the Lord. %%% Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mitima gyammwe. 51COL003.017 And whatsoever ye do in word or deed, do all in the name of the Lord Jesus, giving thanks to God and the Father by him. %%% Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe. 51COL003.018 Wives, submit yourselves unto your own husbands, as it is fit in the Lord. %%% Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe. 51COL003.019 Husbands, love your wives, and be not bitter against them. %%% Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe. 51COL003.020 Children, obey your parents in all things: for this is well pleasing unto the Lord. %%% Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe. 51COL003.021 Fathers, provoke not your children to anger, lest they be discouraged. %%% Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo. 51COL003.022 Servants, obey in all things your masters according to the flesh; not with eyeservice, as menpleasers; but in singleness of heart, fearing God: %%% Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu mubiri mu byonna, si mu kuweereza okw'okungulu ng'abasiimibwa abantu, wabula mu mutima ogutalina bukuusa, nga mutya Mukama waffe: 51COL003.023 And whatsoever ye do, do it heartily, as to the Lord, and not unto men; %%% buli kye munaakolanga mukolenga n'omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe so si ku bwa bantu; 51COL003.024 Knowing that of the Lord ye shall receive the reward of the inheritance: for ye serve the Lord Christ. %%% nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika: muli baddu ba Mukama waffe Kristo. 51COL003.025 But he that doeth wrong shall receive for the wrong which he hath done: and there is no respect of persons. %%% Kubanga ayonoona aliweebwa nate nga bwe yayonoona: so siwali kusosola mu bantu. 51COL004.001 Masters, give unto your servants that which is just and equal; knowing that ye also have a Master in heaven. %%% Bakama baabwe, mugabirenga abaddu bammwe eby'obutuukirivu n'okwenkanyankanyanga; nga mumanyi nga era nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. 51COL004.002 Continue in prayer, and watch in the same with thanksgiving; %%% Munyiikirirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebaza; 51COL004.003 Withal praying also for us, that God would open unto us a door of utterance, to speak the mystery of Christ, for which I am also in bonds: %%% nate nga mutusabira naffe, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okwogera ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa; 51COL004.004 That I may make it manifest, as I ought to speak. %%% ndyoke nkyolesenga, nga bwe kiŋŋwanidde okwogera. 51COL004.005 Walk in wisdom toward them that are without, redeeming the time. %%% Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mweguliranga ebbanga. 51COL004.006 Let your speech be alway with grace, seasoned with salt, that ye may know how ye ought to answer every man. %%% Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna. 51COL004.007 All my state shall Tychicus declare unto you, who is a beloved brother, and a faithful minister and fellowservant in the Lord: %%% Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebifa gye ndi byonna: 51COL004.008 Whom I have sent unto you for the same purpose, that he might know your estate, and comfort your hearts; %%% gwe ntuma gye muli olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli era asanyuse emyoyo gyammwe; 51COL004.009 With Onesimus, a faithful and beloved brother, who is one of you. They shall make known unto you all things which are done here. %%% wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza ebifa wano byonna. 51COL004.010 Aristarchus my fellowprisoner saluteth you, and Marcus, sister's son to Barnabas, (touching whom ye received commandments: if he come unto you, receive him;) %%% Alisutaluuko, musibe munnange, abalamusizza, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, (gwe mwalagirwa; bw'alijja gye muli, mumwanirizanga), 51COL004.011 And Jesus, which is called Justus, who are of the circumcision. These only are my fellowworkers unto the kingdom of God, which have been a comfort unto me. %%% ne Yesu ayitibwa Yusito, ab'omu bakomole: abo bokka be bakozi bannange olw'obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga. 51COL004.012 Epaphras, who is one of you, a servant of Christ, saluteth you, always labouring fervently for you in prayers, that ye may stand perfect and complete in all the will of God. %%% Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala. 51COL004.013 For I bear him record, that he hath a great zeal for you, and them that are in Laodicea, and them in Hierapolis. %%% Kubanga ndi mujulirwa we ng'alina emirimu mingi ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli. 51COL004.014 Luke, the beloved physician, and Demas, greet you. %%% Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza. 51COL004.015 Salute the brethren which are in Laodicea, and Nymphas, and the church which is in his house. %%% Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. 51COL004.016 And when this epistle is read among you, cause that it be read also in the church of the Laodiceans; and that ye likewise read the epistle from Laodicea. %%% Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, era mugisomere ne mu kkanisa ey'Abalawodikiya; era nammwe musome eriva mu Lawodikiya. 51COL004.017 And say to Archippus, Take heed to the ministry which thou hast received in the Lord, that thou fulfil it. %%% Era mugambe Alukipo nti Weekuumenga okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okukutuukiriza. 51COL004.018 The salutation by the hand of me Paul. Remember my bonds. Grace be with you. Amen. %%% Kuno kwe kulamusa kwange n'omukono gwange nze Pawulo. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe. 52T1H001.001 Paul, and Silvanus, and Timotheus, unto the church of the Thessalonians which is in God the Father and in the Lord Jesus Christ: Grace be unto you, and peace, from God our Father, and the Lord Jesus Christ. %%% Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika eri mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe. 52T1H001.002 We give thanks to God always for you all, making mention of you in our prayers; %%% Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe; 52T1H001.003 Remembering without ceasing your work of faith, and labour of love, and patience of hope in our Lord Jesus Christ, in the sight of God and our Father; %%% nga tujjukira bulijjo omulimu gwammwe ogw'okukkiriza, n'okufuba okw'okwagala, n'okugumiikiriza okw'essuubi lya Mukama waffe Yesu Kristo, mu maaso ga Katonda era Kitaffe; 52T1H001.004 Knowing, brethren beloved, your election of God. %%% nga tumanyi, ab'oluganda abaagalwa Katonda, okulondebwa kwammwe, 52T1H001.005 For our gospel came not unto you in word only, but also in power, and in the Holy Ghost, and in much assurance; as ye know what manner of men we were among you for your sake. %%% kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe. 52T1H001.006 And ye became followers of us, and of the Lord, having received the word in much affliction, with joy of the Holy Ghost: %%% Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, bwe mwatoolera ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu ery'Omwoyo Omutukuvu; 52T1H001.007 So that ye were ensamples to all that believe in Macedonia and Achaia. %%% mmwe n'okuba ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya. 52T1H001.008 For from you sounded out the word of the Lord not only in Macedonia and Achaia, but also in every place your faith to God-ward is spread abroad; so that we need not to speak any thing. %%% Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly'ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ne tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera. 52T1H001.009 For they themselves shew of us what manner of entering in we had unto you, and how ye turned to God from idols to serve the living and true God; %%% Kubanga bo bokka babuulira ebyaffe okuyingira kwaffe gye muli bwe kwali; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima, 52T1H001.010 And to wait for his Son from heaven, whom he raised from the dead, even Jesus, which delivered us from the wrath to come. %%% n'okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja. 52T1H002.001 For yourselves, brethren, know our entrance in unto you, that it was not in vain: %%% Kubanga mmwe mwekka, ab'oluganda, mumanyi ng'okuyingira kwaffe gye muli tekwali kwa bwereere: 52T1H002.002 But even after that we had suffered before, and were shamefully entreated, as ye know, at Philippi, we were bold in our God to speak unto you the gospel of God with much contention. %%% naye bwe twamala okubonaabona n'okugirirwa ekyejo mu Firipi, nga bwe mumanyi, ne tugumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi. 52T1H002.003 For our exhortation was not of deceit, nor of uncleanness, nor in guile: %%% Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so si mu bukuusa: 52T1H002.004 But as we were allowed of God to be put in trust with the gospel, even so we speak; not as pleasing men, but God, which trieth our hearts. %%% naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng'abaagala okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emitima gyaffe. 52T1H002.005 For neither at any time used we flattering words, as ye know, nor a cloke of covetousness; God is witness: %%% Kubanga tetubeeranga na kigambo eky'okwegonza, nga bwe mumanyi, newakubadde n'ensonga ey'okukisa okwegomba, Katonda ye mujulirwa; 52T1H002.006 Nor of men sought we glory, neither of you, nor yet of others, when we might have been burdensome, as the apostles of Christ. %%% newakubadde nga tunoonya ekitiibwa eri abantu, newakubadde eri mmwe, 52T1H002.007 But we were gentle among you, even as a nurse cherisheth her children: %%% Naye twali bawombeefu mu mmwe, ng'omulezi bw'ajjanjaba abaana be ye: 52T1H002.008 So being affectionately desirous of you, we were willing to have imparted unto you, not the gospel of God only, but also our own souls, because ye were dear unto us. %%% bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo, ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo. 52T1H002.009 For ye remember, brethren, our labour and travail: for labouring night and day, because we would not be chargeable unto any of you, we preached unto you the gospel of God. %%% Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana: bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda. 52T1H002.010 Ye are witnesses, and God also, how holily and justly and unblameably we behaved ourselves among you that believe: %%% Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kunenyezebwa eri mmwe abakkiriza: 52T1H002.011 As ye know how we exhorted and comforted and charged every one of you, as a father doth his children, %%% nga bwe mumanyi ffe bwe twali eri buli muntu ku mmwe, nga kitaabwe bw'aba eri abaana be, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tutegeeza, 52T1H002.012 That ye would walk worthy of God, who hath called you unto his kingdom and glory. %%% mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye n'ekitiibwa. 52T1H002.013 For this cause also thank we God without ceasing, because, when ye received the word of God which ye heard of us, ye received it not as the word of men, but as it is in truth, the word of God, which effectually worketh also in you that believe. %%% Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky'okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza. 52T1H002.014 For ye, brethren, became followers of the churches of God which in Judaea are in Christ Jesus: for ye also have suffered like things of your own countrymen, even as they have of the Jews: %%% Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwagoberera ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu: kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya; 52T1H002.015 Who both killed the Lord Jesus, and their own prophets, and have persecuted us; and they please not God, and are contrary to all men: %%% abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era abaatugoba, so tebasiimibwa Katonda, era balabe ba bantu bonna; 52T1H002.016 Forbidding us to speak to the Gentiles that they might be saved, to fill up their sins alway: for the wrath is come upon them to the uttermost. %%% nga batuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; okutuukiriza ebibi byabwe ennaku zonna: naye obusungu bubatuuseeko obumalira ddala. 52T1H002.017 But we, brethren, being taken from you for a short time in presence, not in heart, endeavoured the more abundantly to see your face with great desire. %%% Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo: 52T1H002.018 Wherefore we would have come unto you, even I Paul, once and again; but Satan hindered us. %%% kubanga twayagala okujja gye muli, nze Pawulo omulundi ogw'olubereberye era n'ogw'okubiri; Setaani n'atuziyiza. 52T1H002.019 For what is our hope, or joy, or crown of rejoicing? Are not even ye in the presence of our Lord Jesus Christ at his coming? %%% Kubanga essuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey'okwenyumiriza? Bwe mutaba mmwe, mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe? 52T1H002.020 For ye are our glory and joy. %%% Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe n'essanyu. 52T1H003.001 Wherefore when we could no longer forbear, we thought it good to be left at Athens alone; %%% Kyetwava tusiima okulekebwa ennyuma fekka mu Asene, bwe tutaayinza kugumiikiriza nate; 52T1H003.002 And sent Timotheus, our brother, and minister of God, and our fellowlabourer in the gospel of Christ, to establish you, and to comfort you concerning your faith: %%% ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubasanyusa olw'okukkiriza kwammwe; 52T1H003.003 That no man should be moved by these afflictions: for yourselves know that we are appointed thereunto. %%% omuntu yenna aleme okusagaasagana mu kubonaabona kuno; kubanga mwekka mumanyi ng'ekyo kye twateekerwawo. 52T1H003.004 For verily, when we were with you, we told you before that we should suffer tribulation; even as it came to pass, and ye know. %%% Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi. 52T1H003.005 For this cause, when I could no longer forbear, I sent to know your faith, lest by some means the tempter have tempted you, and our labour be in vain. %%% Nange kyennava ntuma, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe; oba nga mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere. 52T1H003.006 But now when Timotheus came from you unto us, and brought us good tidings of your faith and charity, and that ye have good remembrance of us always, desiring greatly to see us, as we also to see you: %%% Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gye tuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe; 52T1H003.007 Therefore, brethren, we were comforted over you in all our affliction and distress by your faith: %%% kyetwava tusanyusibwa, ab'oluganda, ku lwammwe mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna olw'okukkiriza kwammwe: 52T1H003.008 For now we live, if ye stand fast in the Lord. %%% kubanga kaakano tuli balamu, mmwe bwe muyimirira mu Mukama waffe. 52T1H003.009 For what thanks can we render to God again for you, for all the joy wherewith we joy for your sakes before our God; %%% Kubanga kwebaza ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwammwe, olw'essanyu lyonna lye tusanyuka ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe; 52T1H003.010 Night and day praying exceedingly that we might see your face, and might perfect that which is lacking in your faith? %%% emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebitatuuka mu kukkiriza kwammwe? 52T1H003.011 Now God himself and our Father, and our Lord Jesus Christ, direct our way unto you. %%% Naye Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu agolole ekkubo lyaffe okujja gye muli: 52T1H003.012 And the Lord make you to increase and abound in love one toward another, and toward all men, even as we do toward you: %%% nammwe Mukama waffe abongerengako abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka n'eri bonna, era nga naffe eri mmwe; 52T1H003.013 To the end he may stablish your hearts unblameable in holiness before God, even our Father, at the coming of our Lord Jesus Christ with all his saints. %%% alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna. 52T1H004.001 Furthermore then we beseech you, brethren, and exhort you by the Lord Jesus, that as ye have received of us how ye ought to walk and to please God, so ye would abound more and more. %%% Kale, ab'oluganda, ebisigaddeyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwaweebwa ffe bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula; okweyongerangako nate. 52T1H004.002 For ye know what commandments we gave you by the Lord Jesus. %%% Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabalagira ku bwa Mukama waffe Yesu. 52T1H004.003 For this is the will of God, even your sanctification, that ye should abstain from fornication: %%% Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi; 52T1H004.004 That every one of you should know how to possess his vessel in sanctification and honour; %%% buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa, 52T1H004.005 Not in the lust of concupiscence, even as the Gentiles which know not God: %%% si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda; 52T1H004.006 That no man go beyond and defraud his brother in any matter: because that the Lord is the avenger of all such, as we also have forewarned you and testified. %%% alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okutegeereza ddala. 52T1H004.007 For God hath not called us unto uncleanness, but unto holiness. %%% Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu. 52T1H004.008 He therefore that despiseth, despiseth not man, but God, who hath also given unto us his holy Spirit. %%% Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu. 52T1H004.009 But as touching brotherly love ye need not that I write unto you: for ye yourselves are taught of God to love one another. %%% Naye okuwandiikirwa ku by'okwagalanga ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga; 52T1H004.010 And indeed ye do it toward all the brethren which are in all Macedonia: but we beseech you, brethren, that ye increase more and more; %%% kubanga n'okukola mukola bwe mutyo ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira; 52T1H004.011 And that ye study to be quiet, and to do your own business, and to work with your own hands, as we commanded you; %%% era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga ebyammwe mmwe, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira; 52T1H004.012 That ye may walk honestly toward them that are without, and that ye may have lack of nothing. %%% mulyoke mutambulirenga mu mpisa ennungi eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga. 52T1H004.013 But I would not have you to be ignorant, brethren, concerning them which are asleep, that ye sorrow not, even as others which have no hope. %%% Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi. 52T1H004.014 For if we believe that Jesus died and rose again, even so them also which sleep in Jesus will God bring with him. %%% Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye. 52T1H004.015 For this we say unto you by the word of the Lord, that we which are alive and remain unto the coming of the Lord shall not prevent them which are asleep. %%% Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka. 52T1H004.016 For the Lord himself shall descend from heaven with a shout, with the voice of the archangel, and with the trump of God: and the dead in Christ shall rise first: %%% Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: 52T1H004.017 Then we which are alive and remain shall be caught up together with them in the clouds, to meet the Lord in the air: and so shall we ever be with the Lord. %%% naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 52T1H004.018 Wherefore comfort one another with these words. %%% Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino. 52T1H005.001 But of the times and the seasons, brethren, ye have no need that I write unto you. %%% Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa. 52T1H005.002 For yourselves know perfectly that the day of the Lord so cometh as a thief in the night. %%% Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi ekiro, bwe lutyo. 52T1H005.003 For when they shall say, Peace and safety; then sudden destruction cometh upon them, as travail upon a woman with child; and they shall not escape. %%% Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono. 52T1H005.004 But ye, brethren, are not in darkness, that that day should overtake you as a thief. %%% Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi: 52T1H005.005 Ye are all the children of light, and the children of the day: we are not of the night, nor of darkness. %%% kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza; 52T1H005.006 Therefore let us not sleep, as do others; but let us watch and be sober. %%% kale nno tulemenga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira. 52T1H005.007 For they that sleep sleep in the night; and they that be drunken are drunken in the night. %%% Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro. 52T1H005.008 But let us, who are of the day, be sober, putting on the breastplate of faith and love; and for an helmet, the hope of salvation. %%% Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky'omu kifuba eky'okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi. 52T1H005.009 For God hath not appointed us to wrath, but to obtain salvation by our Lord Jesus Christ, %%% Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, 52T1H005.010 Who died for us, that, whether we wake or sleep, we should live together with him. %%% eyatufiirira ffe, bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye. 52T1H005.011 Wherefore comfort yourselves together, and edify one another, even as also ye do. %%% Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola. 52T1H005.012 And we beseech you, brethren, to know them which labour among you, and are over you in the Lord, and admonish you; %%% Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira; 52T1H005.013 And to esteem them very highly in love for their work's sake. And be at peace among yourselves. %%% n'okubassaagamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe. 52T1H005.014 Now we exhort you, brethren, warn them that are unruly, comfort the feebleminded, support the weak, be patient toward all men. %%% Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna. 52T1H005.015 See that none render evil for evil unto any man; but ever follow that which is good, both among yourselves, and to all men. %%% Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna. 52T1H005.016 Rejoice evermore. %%% Musanyukenga ennaku zonna; 52T1H005.017 Pray without ceasing. %%% musabenga obutayosa; 52T1H005.018 In every thing give thanks: for this is the will of God in Christ Jesus concerning you. %%% mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli. 52T1H005.019 Quench not the Spirit. %%% Temuzikizanga Mwoyo; 52T1H005.020 Despise not prophesyings. %%% temunyoomanga bunnabbi; 52T1H005.021 Prove all things; hold fast that which is good. %%% mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi; 52T1H005.022 Abstain from all appearance of evil. %%% mwewalenga buli ngeri ya bubi. 52T1H005.023 And the very God of peace sanctify you wholly; and I pray God your whole spirit and soul and body be preserved blameless unto the coming of our Lord Jesus Christ. %%% Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 52T1H005.024 Faithful is he that calleth you, who also will do it. %%% Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola. 52T1H005.025 Brethren, pray for us. %%% Ab'oluganda, mutusabirenga. 52T1H005.026 Greet all the brethren with an holy kiss. %%% Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu. 52T1H005.027 I charge you by the Lord that this epistle be read unto all the holy brethren. %%% Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna. 52T1H005.028 The grace of our Lord Jesus Christ be with you. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe. 53T2H001.001 Paul, and Silvanus, and Timotheus, unto the church of the Thessalonians in God our Father and the Lord Jesus Christ: %%% Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo; 53T2H001.002 Grace unto you, and peace, from God our Father and the Lord Jesus Christ. %%% ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 53T2H001.003 We are bound to thank God always for you, brethren, as it is meet, because that your faith groweth exceedingly, and the charity of every one of you all toward each other aboundeth; %%% Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu ku mmwe mwenna mwekka na mwekka kweyongera; 53T2H001.004 So that we ourselves glory in you in the churches of God for your patience and faith in all your persecutions and tribulations that ye endure: %%% naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona kwe muzibiikiriza; 53T2H001.005 Which is a manifest token of the righteous judgment of God, that ye may be counted worthy of the kingdom of God, for which ye also suffer: %%% ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera: 53T2H001.006 Seeing it is a righteous thing with God to recompense tribulation to them that trouble you; %%% oba nga kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya, 53T2H001.007 And to you who are troubled rest with us, when the Lord Jesus shall be revealed from heaven with his mighty angels, %%% era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab'obuyinza bwe, 53T2H001.008 In flaming fire taking vengeance on them that know not God, and that obey not the gospel of our Lord Jesus Christ: %%% mu muliro ogwaka, ng'awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu: 53T2H001.009 Who shall be punished with everlasting destruction from the presence of the Lord, and from the glory of his power; %%% abalibonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n'emirembe okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge, 53T2H001.010 When he shall come to be glorified in his saints, and to be admired in all them that believe (because our testimony among you was believed) in that day. %%% bw'alijja okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli. 53T2H001.011 Wherefore also we pray always for you, that our God would count you worthy of this calling, and fulfil all the good pleasure of his goodness, and the work of faith with power: %%% Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize n'amaanyi buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu ogw'okukkiriza; 53T2H001.012 That the name of our Lord Jesus Christ may be glorified in you, and ye in him, according to the grace of our God and the Lord Jesus Christ. %%% erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye, ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri. 53T2H002.001 Now we beseech you, brethren, by the coming of our Lord Jesus Christ, and by our gathering together unto him, %%% Naye tubeegayirira, ab'oluganda, olw'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo n'olw'okukuŋŋaana kwaffe gy'ali; 53T2H002.002 That ye be not soon shaken in mind, or be troubled, neither by spirit, nor by word, nor by letter as from us, as that the day of Christ is at hand. %%% obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gye tuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse; 53T2H002.003 Let no man deceive you by any means: for that day shall not come, except there come a falling away first, and that man of sin be revealed, the son of perdition; %%% omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira, 53T2H002.004 Who opposeth and exalteth himself above all that is called God, or that is worshipped; so that he as God sitteth in the temple of God, shewing himself that he is God. %%% aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda. 53T2H002.005 Remember ye not, that, when I was yet with you, I told you these things? %%% Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nababuulira ebyo? 53T2H002.006 And now ye know what withholdeth that he might be revealed in his time. %%% Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkuke mu ntuuko ze. 53T2H002.007 For the mystery of iniquity doth already work: only he who now letteth will let, until he be taken out of the way. %%% Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola: wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo. 53T2H002.008 And then shall that Wicked be revealed, whom the Lord shall consume with the spirit of his mouth, and shall destroy with the brightness of his coming: %%% Awo omujeemi oli n'alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kw'okujja kwe; 53T2H002.009 Even him, whose coming is after the working of Satan with all power and signs and lying wonders, %%% naye okujja kw'oyo kuli mu kukola kwa Setaani n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba, 53T2H002.010 And with all deceivableness of unrighteousness in them that perish; because they received not the love of the truth, that they might be saved. %%% n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga tebakkiriza kwagala mazima, balyoke balokoke. 53T2H002.011 And for this cause God shall send them strong delusion, that they should believe a lie: %%% Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby'obulimba: 53T2H002.012 That they all might be damned who believed not the truth, but had pleasure in unrighteousness. %%% bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu. 53T2H002.013 But we are bound to give thanks alway to God for you, brethren beloved of the Lord, because God hath from the beginning chosen you to salvation through sanctification of the Spirit and belief of the truth: %%% Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima 53T2H002.014 Whereunto he called you by our gospel, to the obtaining of the glory of our Lord Jesus Christ. %%% bye yabayitira n'enjiri yaffe olw'okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. 53T2H002.015 Therefore, brethren, stand fast, and hold the traditions which ye have been taught, whether by word, or our epistle. %%% Kale nno ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe. 53T2H002.016 Now our Lord Jesus Christ himself, and God, even our Father, which hath loved us, and hath given us everlasting consolation and good hope through grace, %%% Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa, 53T2H002.017 Comfort your hearts, and stablish you in every good word and work. %%% abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi. 53T2H003.001 Finally, brethren, pray for us, that the word of the Lord may have free course, and be glorified, even as it is with you: %%% Ebisigaddeyo, ab'oluganda, mu tusabirenga ekigambo kya Mukama waffe, kiwulukuke, kiweebwenga ekitiibwa, era nga mu mmwe; 53T2H003.002 And that we may be delivered from unreasonable and wicked men: for all men have not faith. %%% era tulokoke eri abantu abatalina magezi, ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna. 53T2H003.003 But the Lord is faithful, who shall stablish you, and keep you from evil. %%% Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, anaabakuumanga eri omubi. 53T2H003.004 And we have confidence in the Lord touching you, that ye both do and will do the things which we command you. %%% Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye tulagira era munaabikolanga. 53T2H003.005 And the Lord direct your hearts into the love of God, and into the patient waiting for Christ. %%% Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo. 53T2H003.006 Now we command you, brethren, in the name of our Lord Jesus Christ, that ye withdraw yourselves from every brother that walketh disorderly, and not after the tradition which he received of us. %%% Era tubalagira, ab'oluganda mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe. 53T2H003.007 For yourselves know how ye ought to follow us: for we behaved not ourselves disorderly among you; %%% Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga: kubanga tetwalemwa kutambula bulungi mu mmwe; 53T2H003.008 Neither did we eat any man's bread for nought; but wrought with labour and travail night and day, that we might not be chargeable to any of you: %%% so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n’okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe: 53T2H003.009 Not because we have not power, but to make ourselves an ensample unto you to follow us. %%% si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'ekyokulabirako mulyoke mutugobererenga. 53T2H003.010 For even when we were with you, this we commanded you, that if any would not work, neither should he eat. %%% Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bwagaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga. 53T2H003.011 For we hear that there are some which walk among you disorderly, working not at all, but are busybodies. %%% Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala. 53T2H003.012 Now them that are such we command and exhort by our Lord Jesus Christ, that with quietness they work, and eat their own bread. %%% Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo. 53T2H003.013 But ye, brethren, be not weary in well doing. %%% Naye mmwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi. 53T2H003.014 And if any man obey not our word by this epistle, note that man, and have no company with him, that he may be ashamed. %%% Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. 53T2H003.015 Yet count him not as an enemy, but admonish him as a brother. %%% So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda. 53T2H003.016 Now the Lord of peace himself give you peace always by all means. The Lord be with you all. %%% Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna. 53T2H003.017 The salutation of Paul with mine own hand, which is the token in every epistle: so I write. %%% Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna: bwe ntyo bwe mpandiika. 53T2H003.018 The grace of our Lord Jesus Christ be with you all. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. 54T1I001.001 Paul, an apostle of Jesus Christ by the commandment of God our Saviour, and Lord Jesus Christ, which is our hope; %%% Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng'okulagira kwa Katonda Omulokozi waffe bwe kuli n'okwa Kristo Yesu essuubi lyaffe; 54T1I001.002 Unto Timothy, my own son in the faith: Grace, mercy, and peace, from God our Father and Jesus Christ our Lord. %%% eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza: ekisa, okusaasira, emirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe. 54T1I001.003 As I besought thee to abide still at Ephesus, when I went into Macedonia, that thou mightest charge some that they teach no other doctrine, %%% Nga bwe nnakubuulirira okubeera mu Efeso, bwe nnali nga ŋŋenda e Makedoni, olagirenga abamu obutayigirizanga bulala, 54T1I001.004 Neither give heed to fables and endless genealogies, which minister questions, rather than godly edifying which is in faith: so do. %%% newakubadde okulowoozanga enfumo n'ebigambo by'obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka okusinga obuwanika bwa Katonda obuli mu kukkiriza; bwe nkola bwe ntyo ne kaakano. 54T1I001.005 Now the end of the commandment is charity out of a pure heart, and of a good conscience, and of faith unfeigned: %%% Naye enkomerero y'ekiragiro kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu n'omwoyo omulungi n'okukkiriza okutalina bukuusa: 54T1I001.006 From which some having swerved have turned aside unto vain jangling; %%% ebyo abamu babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebitaliimu; 54T1I001.007 Desiring to be teachers of the law; understanding neither what they say, nor whereof they affirm. %%% nga baagala okuba ng'abayigiriza b'amateeka, nga tebategeera bye boogera newakubadde bye bakakasa. 54T1I001.008 But we know that the law is good, if a man use it lawfully; %%% Naye tumanyi ng'amateeka malungi, omuntu bw'agasoma ng'amateeka bwe gali, 54T1I001.009 Knowing this, that the law is not made for a righteous man, but for the lawless and disobedient, for the ungodly and for sinners, for unholy and profane, for murderers of fathers and murderers of mothers, for manslayers, %%% ng'amanyi ekyo nti amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu, 54T1I001.010 For whoremongers, for them that defile themselves with mankind, for menstealers, for liars, for perjured persons, and if there be any other thing that is contrary to sound doctrine; %%% abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b'abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n'ebirala byonna ebiwakana n'okuyigiriza okw'obulamu; 54T1I001.011 According to the glorious gospel of the blessed God, which was committed to my trust. %%% ng'enjiri bw'eri ey'ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nnateresebwa nze. 54T1I001.012 And I thank Christ Jesus our Lord, who hath enabled me, for that he counted me faithful, putting me into the ministry; %%% Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa, bwe yanteeka mu buweereza, 54T1I001.013 Who was before a blasphemer, and a persecutor, and injurious: but I obtained mercy, because I did it ignorantly in unbelief. %%% olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo: naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza; 54T1I001.014 And the grace of our Lord was exceeding abundant with faith and love which is in Christ Jesus. %%% ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu. 54T1I001.015 This is a faithful saying, and worthy of all acceptation, that Christ Jesus came into the world to save sinners; of whom I am chief. %%% Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye; 54T1I001.016 Howbeit for this cause I obtained mercy, that in me first Jesus Christ might shew forth all longsuffering, for a pattern to them which should hereafter believe on him to life everlasting. %%% naye kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow'olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo. 54T1I001.017 Now unto the King eternal, immortal, invisible, the only wise God, be honour and glory for ever and ever. Amen. %%% Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. 54T1I001.018 This charge I commit unto thee, son Timothy, according to the prophecies which went before on thee, that thou by them mightest war a good warfare; %%% Ekiragiro kino nkuteresa, mwana wange Timoseewo, ng'ebigambo bya bannabbi bwe byali bye baakwogerako edda, olyoke olwanirenga mu byo olutalo olulungi, 54T1I001.019 Holding faith, and a good conscience; which some having put away concerning faith have made shipwreck: %%% ng'onyweza okukkiriza n'omwoyo omulungi, abalala gwe basindika eri ne bamenyekerwa okukkiriza kwabwe: 54T1I001.020 Of whom is Hymenaeus and Alexander; whom I have delivered unto Satan, that they may learn not to blaspheme. %%% mu abo ye Kumenayo ne Alegezanda: be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga. 54T1I002.001 I exhort therefore, that, first of all, supplications, prayers, intercessions, and giving of thanks, be made for all men; %%% Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebazanga bikolebwenga ku lw'abantu bonna; 54T1I002.002 For kings, and for all that are in authority; that we may lead a quiet and peaceable life in all godliness and honesty. %%% ku lwa bakabaka n'abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza. 54T1I002.003 For this is good and acceptable in the sight of God our Saviour; %%% Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda, 54T1I002.004 Who will have all men to be saved, and to come unto the knowledge of the truth. %%% ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima. 54T1I002.005 For there is one God, and one mediator between God and men, the man Christ Jesus; %%% Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu, 54T1I002.006 Who gave himself a ransom for all, to be testified in due time. %%% eyeewaayo abe omutango olwa bonna; okutegeeza kulibaawo mu ntuuko zaakwo: 54T1I002.007 Whereunto I am ordained a preacher, and an apostle, (I speak the truth in Christ, and lie not;) a teacher of the Gentiles in faith and verity. %%% nze kwe nnateekerwa omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima. 54T1I002.008 I will therefore that men pray every where, lifting up holy hands, without wrath and doubting. %%% Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka. 54T1I002.009 In like manner also, that women adorn themselves in modest apparel, with shamefacedness and sobriety; not with broided hair, or gold, or pearls, or costly array; %%% Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi; 54T1I002.010 But (which becometh women professing godliness) with good works. %%% naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n'ebikolwa ebirungi. 54T1I002.011 Let the woman learn in silence with all subjection. %%% Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. 54T1I002.012 But I suffer not a woman to teach, nor to usurp authority over the man, but to be in silence. %%% Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu. 54T1I002.013 For Adam was first formed, then Eve. %%% Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; 54T1I002.014 And Adam was not deceived, but the woman being deceived was in the transgression. %%% era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona: 54T1I002.015 Notwithstanding she shall be saved in childbearing, if they continue in faith and charity and holiness with sobriety. %%% naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza. 54T1I003.001 This is a true saying, If a man desire the office of a bishop, he desireth a good work. %%% Kyesigwa ekigambo ekyo nti Omuntu bw'ayagalanga obulabirizi, yeegomba mulimu mulungi. 54T1I003.002 A bishop then must be blameless, the husband of one wife, vigilant, sober, of good behaviour, given to hospitality, apt to teach; %%% Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, 54T1I003.003 Not given to wine, no striker, not greedy of filthy lucre; but patient, not a brawler, not covetous; %%% atayombera ku mwenge, atakuba; naye omuwombeefu, atalwana, ateegomba bintu; 54T1I003.004 One that ruleth well his own house, having his children in subjection with all gravity; %%% afuga obulungi ennyumba ye ye, agonza abaana be mu kitiibwa kyonna; 54T1I003.005 (For if a man know not how to rule his own house, how shall he take care of the church of God?) %%% (naye omuntu bw'atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okujjanjaba ekkanisa ya Katonda?) 54T1I003.006 Not a novice, lest being lifted up with pride he fall into the condemnation of the devil. %%% si oyo eyaakakyuka, alemenga okwekulumbaza n'amala agwa mu musango gwa Setaani. 54T1I003.007 Moreover he must have a good report of them which are without; lest he fall into reproach and the snare of the devil. %%% Era nate kimugwanira okubeeranga n'okutegeezebwa okulungi eri abo ab'ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani. 54T1I003.008 Likewise must the deacons be grave, not doubletongued, not given to much wine, not greedy of filthy lucre; %%% Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatanywanga mwenge mungi, si beegombi ba bintu; 54T1I003.009 Holding the mystery of the faith in a pure conscience. %%% nga bakuuma ekyama eky'okukkiriza mu mwoyo omulungi. 54T1I003.010 And let these also first be proved; then let them use the office of a deacon, being found blameless. %%% Era nate abo basookenga okukemebwa, balyoke baweereze, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 54T1I003.011 Even so must their wives be grave, not slanderers, sober, faithful in all things. %%% Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abatatamiira, abeesigwa mu byonna. 54T1I003.012 Let the deacons be the husbands of one wife, ruling their children and their own houses well. %%% Abaweereza babeereaga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n'ennyumba zaabwe bo. 54T1I003.013 For they that have used the office of a deacon well purchase to themselves a good degree, and great boldness in the faith which is in Christ Jesus. %%% Kubanga abamala okuweereza obulungi beefunira obukulu obulungi n'obugumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu. 54T1I003.014 These things write I unto thee, hoping to come unto thee shortly: %%% Nkuwandiikidde ebyo nga nsuubira okujja gy'oli mangu; 54T1I003.015 But if I tarry long, that thou mayest know how thou oughtest to behave thyself in the house of God, which is the church of the living God, the pillar and ground of the truth. %%% naye bwe ndwanga olyoke obe ng'omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima. 54T1I003.016 And without controversy great is the mystery of godliness: God was manifest in the flesh, justified in the Spirit, seen of angels, preached unto the Gentiles, believed on in the world, received up into glory. %%% Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa. 54T1I004.001 Now the Spirit speaketh expressly, that in the latter times some shall depart from the faith, giving heed to seducing spirits, and doctrines of devils; %%% Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n'okuyigiriza kwa basetaani, 54T1I004.002 Speaking lies in hypocrisy; having their conscience seared with a hot iron; %%% olw'obunnanfuusi bw'abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n'ekyuma ekyokya, 54T1I004.003 Forbidding to marry, and commanding to abstain from meats, which God hath created to be received with thanksgiving of them which believe and know the truth. %%% nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima. 54T1I004.004 For every creature of God is good, and nothing to be refused, if it be received with thanksgiving: %%% Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitoolebwa n'okwebaza: 54T1I004.005 For it is sanctified by the word of God and prayer. %%% kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba. 54T1I004.006 If thou put the brethren in remembrance of these things, thou shalt be a good minister of Jesus Christ, nourished up in the words of faith and of good doctrine, whereunto thou hast attained. %%% Bw'onojjukizanga ab'oluganda ebyo, onoobaaga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okukkiriza n'eby'okuyigiriza okulungi kwe wagoberera: 54T1I004.007 But refuse profane and old wives' fables, and exercise thyself rather unto godliness. %%% naye enfumo ezitali za ddiini ez'obusirusiru z'oba olekanga. Weemanyiizenga okutya Katonda: 54T1I004.008 For bodily exercise profiteth little: but godliness is profitable unto all things, having promise of the life that now is, and of that which is to come. %%% kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja. 54T1I004.009 This is a faithful saying and worthy of all acceptation. %%% Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okukkirizibwa kwonna. 54T1I004.010 For therefore we both labour and suffer reproach, because we trust in the living God, who is the Saviour of all men, specially of those that believe. %%% Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza, 54T1I004.011 These things command and teach. %%% Lagiranga ebyo obiyigirizenga, 54T1I004.012 Let no man despise thy youth; but be thou an example of the believers, in word, in conversation, in charity, in spirit, in faith, in purity. %%% Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kya kulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga: mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu. 54T1I004.013 Till I come, give attendance to reading, to exhortation, to doctrine. %%% Okutuusa lwe ndijja, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okuyigirizanga. 54T1I004.014 Neglect not the gift that is in thee, which was given thee by prophecy, with the laying on of the hands of the presbytery. %%% Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw'obunnabbi awamu n'okuteekebwako emikono gy'abakadde. 54T1I004.015 Meditate upon these things; give thyself wholly to them; that thy profiting may appear to all. %%% Ebyo obiroweozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna. 54T1I004.016 Take heed unto thyself, and unto the doctrine; continue in them: for in doing this thou shalt both save thyself, and them that hear thee. %%% Weekuumenga wekka n'okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola wekka era n'abo abakuwulira. 54T1I005.001 Rebuke not an elder, but intreat him as a father; and the younger men as brethren; %%% Tonenyanga mukadde, naye omubuuliriranga nga kitaawo abavubuka ng'ab'oluganda: 54T1I005.002 The elder women as mothers; the younger as sisters, with all purity. %%% abakazi abakadde nga nnyoko; abato nga bannyoko mu bulongoofu bwonna. 54T1I005.003 Honour widows that are widows indeed. %%% Obawenga ekitiibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala. 54T1I005.004 But if any widow have children or nephews, let them learn first to shew piety at home, and to requite their parents: for that is good and acceptable before God. %%% Naye nnamwandu yenna bw'aba n'abaana oba bazzukulu basookenga okuyiga okwegendereza eri ab'omu nnyumba zaabwe, n'okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda. 54T1I005.005 Now she that is a widow indeed, and desolate, trusteth in God, and continueth in supplications and prayers night and day. %%% Naye abeera nnamwandu ddala n'alekebwa yekka, asuubira Katonda, n'anyiikiranga okusaba n'okwegayiriranga emisana n'ekiro. 54T1I005.006 But she that liveth in pleasure is dead while she liveth. %%% Naye oyo awoomerwa ebinyumu ng'afudde newakubadde ng'akyali mulamu. 54T1I005.007 And these things give in charge, that they may be blameless. %%% Era n'ebyo obalagire, balemenga okubaako eky'okunenyezebwa. 54T1I005.008 But if any provide not for his own, and specially for those of his own house, he hath denied the faith, and is worse than an infidel. %%% Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe n'okusinga ab'omu nnyumba ye nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza. 54T1I005.009 Let not a widow be taken into the number under threescore years old, having been the wife of one man, %%% Nnamwandu yenna tawandiikibwanga nga tannatuusa myaka nkaaga, eyafumbirwa omusajja omu 54T1I005.010 Well reported of for good works; if she have brought up children, if she have lodged strangers, if she have washed the saints' feet, if she have relieved the afflicted, if she have diligently followed every good work. %%% asiimibwa mu bikolwa ebirungi oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yabeeranga ababonaabona, oba nga yagobereranga nnyo buli kikolwa ekirungi. 54T1I005.011 But the younger widows refuse: for when they have begun to wax wanton against Christ, they will marry; %%% Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga: kubanga bwe balikabawala eri Kristo, nga baagala okufumbirwa; 54T1I005.012 Having damnation, because they have cast off their first faith. %%% nga bazza omusango kuba basuula okukkiriza kwabwe okw’olubereberye. 54T1I005.013 And withal they learn to be idle, wandering about from house to house; and not only idle, but tattlers also and busybodies, speaking things which they ought not. %%% Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga batambulatambula okubuna amayumba naye tebagayaala bugayaazi, naye balina olugambo n'akajanja nga boogera ebitasaana. 54T1I005.014 I will therefore that the younger women marry, bear children, guide the house, give none occasion to the adversary to speak reproachfully. %%% Kyenva njagala abakyali abato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, bafugenga ennyumba, balemenga okuwa omulabe ebbanga w'ayima okuvuma: 54T1I005.015 For some are already turned aside after Satan. %%% kubanga waliwo kaakano abaakyuka okugoberera Setaani. 54T1I005.016 If any man or woman that believeth have widows, let them relieve them, and let not the church be charged; that it may relieve them that are widows indeed. %%% Omukazi yenna akkiriza bw’abanga ne bannamwandu, abayambenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala. 54T1I005.017 Let the elders that rule well be counted worthy of double honour, especially they who labour in the word and doctrine. %%% Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n'okuyigiriza. 54T1I005.018 For the scripture saith, Thou shalt not muzzle the ox that treadeth out the corn. And, The labourer is worthy of his reward. %%% Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano. Era nti Akola emirimu asaanira empeera ye. 54T1I005.019 Against an elder receive not an accusation, but before two or three witnesses. %%% Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu. 54T1I005.020 Them that sin rebuke before all, that others also may fear. %%% Aboonoona obanenyezanga mu maaso g'abantu bonna, era n'abalala balyoke batyenga. 54T1I005.021 I charge thee before God, and the Lord Jesus Christ, and the elect angels, that thou observe these things without preferring one before another, doing nothing by partiality. %%% Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw'obuganzi. 54T1I005.022 Lay hands suddenly on no man, neither be partaker of other men's sins: keep thyself pure. %%% Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu. 54T1I005.023 Drink no longer water, but use a little wine for thy stomach's sake and thine often infirmities. %%% Tonywanga mazzi gokka, naye onywanga ne ku mwenge katono olw'olubuto lwo n'olw'okulwalalwala. 54T1I005.024 Some men's sins are open beforehand, going before to judgment; and some men they follow after. %%% Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n'abalala bibavaako nnyuma. 54T1I005.025 Likewise also the good works of some are manifest beforehand; and they that are otherwise cannot be hid. %%% Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; ne bwe kitaba bwe kityo tebirirema kwolesebwa. 54T1I006.001 Let as many servants as are under the yoke count their own masters worthy of all honour, that the name of God and his doctrine be not blasphemed. %%% Abali mu bufuge abaddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa. 54T1I006.002 And they that have believing masters, let them not despise them, because they are brethren; but rather do them service, because they are faithful and beloved, partakers of the benefit. These things teach and exhort. %%% Era abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abassa ekimu mu kukolwa obulungi bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga. 54T1I006.003 If any man teach otherwise, and consent not to wholesome words, even the words of our Lord Jesus Christ, and to the doctrine which is according to godliness; %%% Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda; 54T1I006.004 He is proud, knowing nothing, but doting about questions and strifes of words, whereof cometh envy, strife, railings, evil surmisings, %%% nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambiza empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi, 54T1I006.005 Perverse disputings of men of corrupt minds, and destitute of the truth, supposing that gain is godliness: from such withdraw thyself. %%% okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba. 54T1I006.006 But godliness with contentment is great gain. %%% Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi: 54T1I006.007 For we brought nothing into this world, and it is certain we can carry nothing out. %%% kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu; 54T1I006.008 And having food and raiment let us be therewith content. %%% naye bwe tuba n’emmere n'ebyokwambala, ebyo binaatumalanga. 54T1I006.009 But they that will be rich fall into temptation and a snare, and into many foolish and hurtful lusts, which drown men in destruction and perdition. %%% Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira. 54T1I006.010 For the love of money is the root of all evil: which while some coveted after, they have erred from the faith, and pierced themselves through with many sorrows. %%% Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi. 54T1I006.011 But thou, O man of God, flee these things; and follow after righteousness, godliness, faith, love, patience, meekness. %%% Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo,ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu. 54T1I006.012 Fight the good fight of faith, lay hold on eternal life, whereunto thou art also called, and hast professed a good profession before many witnesses. %%% Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi. 54T1I006.013 I give thee charge in the sight of God, who quickeneth all things, and before Christ Jesus, who before Pontius Pilate witnessed a good confession; %%% Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato; 54T1I006.014 That thou keep this commandment without spot, unrebukeable, until the appearing of our Lord Jesus Christ: %%% weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo: 54T1I006.015 Which in his times he shall shew, who is the blessed and only Potentate, the King of kings, and Lord of lords; %%% kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami; 54T1I006.016 Who only hath immortality, dwelling in the light which no man can approach unto; whom no man hath seen, nor can see: to whom be honour and power everlasting. Amen. %%% alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina. 54T1I006.017 Charge them that are rich in this world, that they be not highminded, nor trust in uncertain riches, but in the living God, who giveth us richly all things to enjoy; %%% Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo; 54T1I006.018 That they do good, that they be rich in good works, ready to distribute, willing to communicate; %%% bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu; 54T1I006.019 Laying up in store for themselves a good foundation against the time to come, that they may lay hold on eternal life. %%% nga beeterekera eky'okuyimako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala. 54T1I006.020 O Timothy, keep that which is committed to thy trust, avoiding profane and vain babblings, and oppositions of science falsely so called: %%% Ai Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okulwana kw'ebigambo eby'okutegeera, okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba; 54T1I006.021 Which some professing have erred concerning the faith. Grace be with thee. Amen. %%% waliwo abantu abeegomba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe. 55T2I001.001 Paul, an apostle of Jesus Christ by the will of God, according to the promise of life which is in Christ Jesus, %%% Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ng'okusuubiza bwe kuli okw'obulamu obuli mu Kristo Yesu, 55T2I001.002 To Timothy, my dearly beloved son: Grace, mercy, and peace, from God the Father and Christ Jesus our Lord. %%% eri Timoseewo, omwana wange omwagalwa: ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe bituuke gy'oli. 55T2I001.003 I thank God, whom I serve from my forefathers with pure conscience, that without ceasing I have remembrance of thee in my prayers night and day; %%% Nneebaza Katonda gwe mpeereza okuva ku bajjajjange mu mwoyo omulungi, bwe nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n'ekiro 55T2I001.004 Greatly desiring to see thee, being mindful of thy tears, that I may be filled with joy; %%% nga nkulumirwa okukulaba, bwe njijukira amaziga go, ndyoke njijule essanyu; 55T2I001.005 When I call to remembrance the unfeigned faith that is in thee, which dwelt first in thy grandmother Lois, and thy mother Eunice; and I am persuaded that in thee also. %%% bwe nnajjukizibwa okukkiriza okutali kwa bukuusa okuli mu ggwe; okwabeeranga olubereberye mu jjajjaawo Looyi ne mu nnyoko Ewuniike, era ntegeeredde ddala nga kuli ne mu ggwe. 55T2I001.006 Wherefore I put thee in remembrance that thou stir up the gift of God, which is in thee by the putting on of my hands. %%% Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe olw'okuteekebwako emikono gyange. 55T2I001.007 For God hath not given us the spirit of fear; but of power, and of love, and of a sound mind. %%% Kubanga Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaanyi era ogw'okwagala era ogw'okwegenderezanga. 55T2I001.008 Be not thou therefore ashamed of the testimony of our Lord, nor of me his prisoner: but be thou partaker of the afflictions of the gospel according to the power of God; %%% Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga wamu n'enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali; 55T2I001.009 Who hath saved us, and called us with an holy calling, not according to our works, but according to his own purpose and grace, which was given us in Christ Jesus before the world began, %%% eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo, 55T2I001.010 But is now made manifest by the appearing of our Saviour Jesus Christ, who hath abolished death, and hath brought life and immortality to light through the gospel: %%% naye kirabisibwa kaakano olw'okwolesebwa kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa n'amulisa obulamu n'obutazikirira olw'enjiri, 55T2I001.011 Whereunto I am appointed a preacher, and an apostle, and a teacher of the Gentiles. %%% gye nnateekerwawo omubuulizi era omutume era omuyigiriza. 55T2I001.012 For the which cause I also suffer these things: nevertheless I am not ashamed: for I know whom I have believed, and am persuaded that he is able to keep that which I have committed unto him against that day. %%% Era kyenva mbonaabona bwe ntyo: naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli. 55T2I001.013 Hold fast the form of sound words, which thou hast heard of me, in faith and love which is in Christ Jesus. %%% Nywezanga ekyokulabirako eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu. 55T2I001.014 That good thing which was committed unto thee keep by the Holy Ghost which dwelleth in us. %%% Ekintu ekirungi kye wateresebwa okikuumenga n'Omwoyo Omutukuvu, abeera muffe. 55T2I001.015 This thou knowest, that all they which are in Asia be turned away from me; of whom are Phygellus and Hermogenes. %%% Kino okimanyi nga bonna abali mu Asiya bankuba amabega; ku abo ye Fugero ne Kerumogene. 55T2I001.016 The Lord give mercy unto the house of Onesiphorus; for he oft refreshed me, and was not ashamed of my chain: %%% Mukama waffe asaasire ennyumba ya Onesifolo: kubanga yampummuzanga emirundi mingi, so teyakwatirwa nsonyi lujegere lwange, 55T2I001.017 But, when he was in Rome, he sought me out very diligently, and found me. %%% naye bwe yali mu Ruumi n'anyiikira okunnoonya n'okulaba n'andaba 55T2I001.018 The Lord grant unto him that he may find mercy of the Lord in that day: and in how many things he ministered unto me at Ephesus, thou knowest very well. %%% (Mukama waffe amuwe okulaba okusaasirwa eri Mukama waffe ku lunaku luli); era n'okuweereza kwonna kwe yaweerezanga mu Efeso, ggwe okutegeera bulungi nnyo. 55T2I002.001 Thou therefore, my son, be strong in the grace that is in Christ Jesus. %%% Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. 55T2I002.002 And the things that thou hast heard of me among many witnesses, the same commit thou to faithful men, who shall be able to teach others also. %%% Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala. 55T2I002.003 Thou therefore endure hardness, as a good soldier of Jesus Christ. %%% Bonaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. 55T2I002.004 No man that warreth entangleth himself with the affairs of this life; that he may please him who hath chosen him to be a soldier. %%% Siwali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi. 55T2I002.005 And if a man also strive for masteries, yet is he not crowned, except he strive lawfully. %%% Naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa. 55T2I002.006 The husbandman that laboureth must be first partaker of the fruits. %%% Omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala. 55T2I002.007 Consider what I say; and the Lord give thee understanding in all things. %%% Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna. 55T2I002.008 Remember that Jesus Christ of the seed of David was raised from the dead according to my gospel: %%% Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera: 55T2I002.009 Wherein I suffer trouble, as an evil doer, even unto bonds; but the word of God is not bound. %%% gye mbonaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa. 55T2I002.010 Therefore I endure all things for the elect's sakes, that they may also obtain the salvation which is in Christ Jesus with eternal glory. %%% Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune obulokovu obuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo. 55T2I002.011 It is a faithful saying: For if we be dead with him, we shall also live with him: %%% Ekigambo kino kyesigwa nti Kuba oba nga twafa naye, era tulibeera balamu naye 55T2I002.012 If we suffer, we shall also reign with him: if we deny him, he also will deny us: %%% oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe: 55T2I002.013 If we believe not, yet he abideth faithful: he cannot deny himself. %%% oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba. 55T2I002.014 Of these things put them in remembrance, charging them before the Lord that they strive not about words to no profit, but to the subverting of the hearers. %%% Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira. 55T2I002.015 Study to shew thyself approved unto God, a workman that needeth not to be ashamed, rightly dividing the word of truth. %%% Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima. 55T2I002.016 But shun profane and vain babblings: for they will increase unto more ungodliness. %%% Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga: kubanga baliyitirira mu butatya Katonda, 55T2I002.017 And their word will eat as doth a canker: of whom is Hymenaeus and Philetus; %%% n'ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo: ku abo ye Kumenayo ne Fireeto; 55T2I002.018 Who concerning the truth have erred, saying that the resurrection is past already; and overthrow the faith of some. %%% kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe. 55T2I002.019 Nevertheless the foundation of God standeth sure, having this seal, The Lord knoweth them that are his. And, Let every one that nameth the name of Christ depart from iniquity. %%% Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti Mukama waffe amanyi ababe: era nti Yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula erinnya lya Mukama waffe. 55T2I002.020 But in a great house there are not only vessels of gold and of silver, but also of wood and of earth; and some to honour, and some to dishonour. %%% Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa 55T2I002.021 If a man therefore purge himself from these, he shall be a vessel unto honour, sanctified, and meet for the master's use, and prepared unto every good work. %%% Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi. 55T2I002.022 Flee also youthful lusts: but follow righteousness, faith, charity, peace, with them that call on the Lord out of a pure heart. %%% Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe awamu n'abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu. 55T2I002.023 But foolish and unlearned questions avoid, knowing that they do gender strifes. %%% Naye empaka ez'obusirusiru era ez'obutayigirizibwa ozirekanga, ng'omanyi nga zizaala okulwana. 55T2I002.024 And the servant of the Lord must not strive; but be gentle unto all men, apt to teach, patient, %%% Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza, 55T2I002.025 In meekness instructing those that oppose themselves; if God peradventure will give them repentance to the acknowledging of the truth; %%% abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima, 55T2I002.026 And that they may recover themselves out of the snare of the devil, who are taken captive by him at his will. %%% era balitamiirukuka okuva mu mutego gwa Setaani, oyo ng'amaze okubakwasa okukolanga okwagala kw'oli. 55T2I003.001 This know also, that in the last days perilous times shall come. %%% Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvannyuma ebiro eby'okulaba ennaku birijja. 55T2I003.002 For men shall be lovers of their own selves, covetous, boasters, proud, blasphemers, disobedient to parents, unthankful, unholy, %%% Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, 55T2I003.003 Without natural affection, trucebreakers, false accusers, incontinent, fierce, despisers of those that are good, %%% abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, 55T2I003.004 Traitors, heady, highminded, lovers of pleasures more than lovers of God; %%% ab'enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda; 55T2I003.005 Having a form of godliness, but denying the power thereof: from such turn away. %%% nga balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega. 55T2I003.006 For of this sort are they which creep into houses, and lead captive silly women laden with sins, led away with divers lusts, %%% Kubanga ku abo be bantu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu, 55T2I003.007 Ever learning, and never able to come to the knowledge of the truth. %%% abayiga bulijjo, ne batayinza ennaku zonna kutuuka ku kutegeerera ddala mazima. 55T2I003.008 Now as Jannes and Jambres withstood Moses, so do these also resist the truth: men of corrupt minds, reprobate concerning the faith. %%% Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; bayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza. 55T2I003.009 But they shall proceed no further: for their folly shall be manifest unto all men, as theirs also was. %%% Naye tebalyeyongerako kuyitirira: kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna, era ng'obwa bali bwe bwali. 55T2I003.010 But thou hast fully known my doctrine, manner of life, purpose, faith, longsuffering, charity, patience, %%% Naye gwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange, 55T2I003.011 Persecutions, afflictions, which came unto me at Antioch, at Iconium, at Lystra; what persecutions I endured: but out of them all the Lord delivered me. %%% okuyigganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali: era Mukama waffe yandokola mu byonna. 55T2I003.012 Yea, and all that will live godly in Christ Jesus shall suffer persecution. %%% Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga. 55T2I003.013 But evil men and seducers shall wax worse and worse, deceiving, and being deceived. %%% Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa. 55T2I003.014 But continue thou in the things which thou hast learned and hast been assured of, knowing of whom thou hast learned them; %%% Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n'otegeerera ddala, ng'omanyi abakuyigiriza bwe bali; 55T2I003.015 And that from a child thou hast known the holy scriptures, which are able to make thee wise unto salvation through faith which is in Christ Jesus. %%% era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu. 55T2I003.016 All scripture is given by inspiration of God, and is profitable for doctrine, for reproof, for correction, for instruction in righteousness: %%% Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu; 55T2I003.017 That the man of God may be perfect, throughly furnished unto all good works. %%% omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi. 55T2I004.001 I charge thee therefore before God, and the Lord Jesus Christ, who shall judge the quick and the dead at his appearing and his kingdom; %%% Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe; 55T2I004.002 Preach the word; be instant in season, out of season; reprove, rebuke, exhort with all longsuffering and doctrine. %%% buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza. 55T2I004.003 For the time will come when they will not endure sound doctrine; but after their own lusts shall they heap to themselves teachers, having itching ears; %%% Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli; 55T2I004.004 And they shall turn away their ears from the truth, and shall be turned unto fables. %%% baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo. 55T2I004.005 But watch thou in all things, endure afflictions, do the work of an evangelist, make full proof of thy ministry. %%% Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo. 55T2I004.006 For I am now ready to be offered, and the time of my departure is at hand. %%% Kubanga nze kaakano nfukibwa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse. 55T2I004.007 I have fought a good fight, I have finished my course, I have kept the faith: %%% Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye: 55T2I004.008 Henceforth there is laid up for me a crown of righteousness, which the Lord, the righteous judge, shall give me at that day: and not to me only, but unto all them also that love his appearing. %%% ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey'obutuukirivu Mukama waffe gy'alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy'ensonga: so si nze nzekka naye era ne bonna abaagala okulabika kwe. 55T2I004.009 Do thy diligence to come shortly unto me: %%% Fuba okujja gye ndi mangu: 55T2I004.010 For Demas hath forsaken me, having loved this present world, and is departed unto Thessalonica; Crescens to Galatia, Titus unto Dalmatia. %%% kubanga Dema yandekawo, ng'ayagala emirembe egya kaakano, n'agenda e Ssessaloniika; Kulesuke e Ggalatiya, Tito e Dalumatiya. 55T2I004.011 Only Luke is with me. Take Mark, and bring him with thee: for he is profitable to me for the ministry. %%% Lukka ye ali awamu nange yekka. Twala Makko, omuleete wamu naawe; kubanga angasa olw'okuweereza. 55T2I004.012 And Tychicus have I sent to Ephesus. %%% Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso. 55T2I004.013 The cloke that I left at Troas with Carpus, when thou comest, bring with thee, and the books, but especially the parchments. %%% Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw'oliba ng'ojja, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, biri eby'amaliba. 55T2I004.014 Alexander the coppersmith did me much evil: the Lord reward him according to his works: %%% Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankola obubi bungi: Mukama waffe alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byali: 55T2I004.015 Of whom be thou ware also; for he hath greatly withstood our words. %%% oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe. 55T2I004.016 At my first answer no man stood with me, but all men forsook me: I pray God that it may not be laid to their charge. %%% Mu kuwoza kwange okw'olubereberye siwali eyannyamba, naye bonna banjabulira: nsaba baleme okukibalirwa. 55T2I004.017 Notwithstanding the Lord stood with me, and strengthened me; that by me the preaching might be fully known, and that all the Gentiles might hear: and I was delivered out of the mouth of the lion. %%% Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n’ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire: ne ndokoka mu kamwa k'empologoma. 55T2I004.018 And the Lord shall deliver me from every evil work, and will preserve me unto his heavenly kingdom: to whom be glory for ever and ever. Amen. %%% Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw'omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. 55T2I004.019 Salute Prisca and Aquila, and the household of Onesiphorus. %%% Lamusa Pulisika ne Akula, n'ennyumba ya Onesifolo. 55T2I004.020 Erastus abode at Corinth: but Trophimus have I left at Miletum sick. %%% Erasuto yabeera mu Kkolinso: naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng'alwadde. 55T2I004.021 Do thy diligence to come before winter. Eubulus greeteth thee, and Pudens, and Linus, and Claudia, and all the brethren. %%% Fuba okujja ebiro by'empewo nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n'ab'oluganda bonna. 55T2I004.022 The Lord Jesus Christ be with thy spirit. Grace be with you. Amen. %%% Mukama waffe abeerenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe. 56PHM001.001 Paul, a prisoner of Jesus Christ, and Timothy our brother, unto Philemon our dearly beloved, and fellowlabourer, %%% Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe, 56PHM001.002 And to our beloved Apphia, and Archippus our fellowsoldier, and to the church in thy house: %%% ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yo: 56PHM001.003 Grace to you, and peace, from God our Father and the Lord Jesus Christ. %%% ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga gye muli. 56PHM001.004 I thank my God, making mention of thee always in my prayers, %%% Nneebaza Katonda wange ennaku zonna, nga nkwogerako mu kusaba kwange, 56PHM001.005 Hearing of thy love and faith, which thou hast toward the Lord Jesus, and toward all saints; %%% bwe nnawulira okwagala kwo n'okukkiriza kw'olina eri Mukama waffe Yesu n'eri abatukuvu bonna; 56PHM001.006 That the communication of thy faith may become effectual by the acknowledging of every good thing which is in you in Christ Jesus. %%% okussa ekimu okw'okukkiriza kwo kulyoke kukolenga omulimu, mu kutegeerera ddala buli kigambo ekirungi ekiri mu mmwe, olwa Kristo. 56PHM001.007 For we have great joy and consolation in thy love, because the bowels of the saints are refreshed by thee, brother. %%% Kubanga nnajaguza nnyo ne nsanyuka olw'okwagala kwo, kubanga emyoyo gy'abatukuvu wagiwummuza, ow'oluganda. 56PHM001.008 Wherefore, though I might be much bold in Christ to enjoin thee that which is convenient, %%% Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira ekisaana, 56PHM001.009 Yet for love's sake I rather beseech thee, being such an one as Paul the aged, and now also a prisoner of Jesus Christ. %%% naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukadde, era kaakano omusibe wa Kristo Yesu: 56PHM001.010 I beseech thee for my son Onesimus, whom I have begotten in my bonds: %%% nkwegayirira olw'omwana wange, gwe nnazaalira mu busibe bwange, Onnessimo, 56PHM001.011 Which in time past was to thee unprofitable, but now profitable to thee and to me: %%% ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ggwe nange: 56PHM001.012 Whom I have sent again: thou therefore receive him, that is, mine own bowels: %%% gwe nkomyawo gy'oli yennyini, ye gwe mwoyo gwange: 56PHM001.013 Whom I would have retained with me, that in thy stead he might have ministered unto me in the bonds of the gospel: %%% nze gwe mbadde njagala okubeera naye gye ndi, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu busibe bw'enjiri: 56PHM001.014 But without thy mind would I do nothing; that thy benefit should not be as it were of necessity, but willingly. %%% naye ssaayagala kukola kigambo nga toteesezza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala. 56PHM001.015 For perhaps he therefore departed for a season, that thou shouldest receive him for ever; %%% Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe; 56PHM001.016 Not now as a servant, but above a servant, a brother beloved, specially to me, but how much more unto thee, both in the flesh, and in the Lord? %%% nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe. 56PHM001.017 If thou count me therefore a partner, receive him as myself. %%% Kale oba ng'ondowooza nze okubeera munno, musembeze oyo nga nze. 56PHM001.018 If he hath wronged thee, or oweth thee ought, put that on mine account; %%% Naye oba nga yakwonoona oba abanjibwa, mbalira nze ekyo; 56PHM001.019 I Paul have written it with mine own hand, I will repay it: albeit I do not say to thee how thou owest unto me even thine own self besides. %%% nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula: nneme okukugamba nga nkubanja era naawe wekka nate. 56PHM001.020 Yea, brother, let me have joy of thee in the Lord: refresh my bowels in the Lord. %%% Kale, ow'oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe: owummuze omwoyo gwange mu Kristo. 56PHM001.021 Having confidence in thy obedience I wrote unto thee, knowing that thou wilt also do more than I say. %%% Nkuwandiikidde nga nneesiga obugonvu bwo, nga mmanyi ng'olikola era okusinga bye njogera. 56PHM001.022 But withal prepare me also a lodging: for I trust that through your prayers I shall be given unto you. %%% Naye era nate onnongoosereze aw'okusula: kubanga nsuubira olw'okusaba kwammwe muliweebwa okundaba. 56PHM001.023 There salute thee Epaphras, my fellowprisoner in Christ Jesus; %%% Epafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza; 56PHM001.024 Marcus, Aristarchus, Demas, Lucas, my fellowlabourers. %%% ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange. 56PHM001.025 The grace of our Lord Jesus Christ be with your spirit. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. Amiina. 57TIT001.001 Paul, a servant of God, and an apostle of Jesus Christ, according to the faith of God's elect, and the acknowledging of the truth which is after godliness; %%% Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okukkiriza kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, 57TIT001.002 In hope of eternal life, which God, that cannot lie, promised before the world began; %%% mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza ebiro eby'emirembe n'emirembe nga tebinnabaawo; 57TIT001.003 But hath in due times manifested his word through preaching, which is committed unto me according to the commandment of God our Saviour; %%% naye mu ntuuko ze yalabisa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri; 57TIT001.004 To Titus, mine own son after the common faith: Grace, mercy, and peace, from God the Father and the Lord Jesus Christ our Saviour. %%% eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli: ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli. 57TIT001.005 For this cause left I thee in Crete, that thou shouldest set in order the things that are wanting, and ordain elders in every city, as I had appointed thee: %%% Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga nga nze bwe nnakulagira; 57TIT001.006 If any be blameless, the husband of one wife, having faithful children not accused of riot or unruly. %%% omuntu bw'atabangako musango, ng'alina omukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu, so si abatagonda. 57TIT001.007 For a bishop must be blameless, as the steward of God; not selfwilled, not soon angry, not given to wine, no striker, not given to filthy lucre; %%% Kubanga omulabirizi kimugwanira obutabangako musango, ng'omuwanika wa Katonda; si mukakanyavu, si wa busungu, si ayombera ku mwenge, si akuba, si eyeegomba amagoba mu bukuusa; 57TIT001.008 But a lover of hospitality, a lover of good men, sober, just, holy, temperate; %%% naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeekuuma; 57TIT001.009 Holding fast the faithful word as he hath been taught, that he may be able by sound doctrine both to exhort and to convince the gainsayers. %%% anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw'obulamu, era n'okusinga abayomba naye. 57TIT001.010 For there are many unruly and vain talkers and deceivers, specially they of the circumcision: %%% Kubanga eriyo bangi abatagonda, aboogera ebitaliimu, abalimba, era okusinga ba mu bakomole, 57TIT001.011 Whose mouths must be stopped, who subvert whole houses, teaching things which they ought not, for filthy lucre's sake. %%% abagwanira okuzibibwanga emimwa; kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa: 57TIT001.012 One of themselves, even a prophet of their own, said, The Cretians are alway liars, evil beasts, slow bellies. %%% Omu ku bo, nnabbi waabwe bo, yagamba nti Abakuleete balimba ennaku zonna, ensolo embi, embuto engayaavu. 57TIT001.013 This witness is true. Wherefore rebuke them sharply, that they may be sound in the faith; %%% Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova obaboggoleranga n'obukambwe, balyoke babeere n'obulamu olw'okukkiriza 57TIT001.014 Not giving heed to Jewish fables, and commandments of men, that turn from the truth. %%% balemenga okuwulira enfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyuka okuleka amazima. 57TIT001.015 Unto the pure all things are pure: but unto them that are defiled and unbelieving is nothing pure; but even their mind and conscience is defiled. %%% Eri abalongoofu byonna birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n'abatakkiriza eri abo tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa. 57TIT001.016 They profess that they know God; but in works they deny him, being abominable, and disobedient, and unto every good work reprobate. %%% Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi. 57TIT002.001 But speak thou the things which become sound doctrine: %%% But speak thou the things which become sound doctrine: 57TIT002.002 That the aged men be sober, grave, temperate, sound in faith, in charity, in patience. %%% That the aged men be sober, grave, temperate, sound in faith, in charity, in patience. 57TIT002.003 The aged women likewise, that they be in behaviour as becometh holiness, not false accusers, not given to much wine, teachers of good things; %%% The aged women likewise, that they be in behaviour as becometh holiness, not false accusers, not given to much wine, teachers of good things; 57TIT002.004 That they may teach the young women to be sober, to love their husbands, to love their children, %%% That they may teach the young women to be sober, to love their husbands, to love their children, 57TIT002.005 To be discreet, chaste, keepers at home, good, obedient to their own husbands, that the word of God be not blasphemed. %%% To be discreet, chaste, keepers at home, good, obedient to their own husbands, that the word of God be not blasphemed. 57TIT002.006 Young men likewise exhort to be sober minded. %%% Young men likewise exhort to be sober minded. 57TIT002.007 In all things shewing thyself a pattern of good works: in doctrine shewing uncorruptness, gravity, sincerity, %%% In all things shewing thyself a pattern of good works: in doctrine shewing uncorruptness, gravity, sincerity, 57TIT002.008 Sound speech, that cannot be condemned; that he that is of the contrary part may be ashamed, having no evil thing to say of you. %%% Sound speech, that cannot be condemned; that he that is of the contrary part may be ashamed, having no evil thing to say of you. 57TIT002.009 Exhort servants to be obedient unto their own masters, and to please them well in all things; not answering again; %%% Exhort servants to be obedient unto their own masters, and to please them well in all things; not answering again; 57TIT002.010 Not purloining, but shewing all good fidelity; that they may adorn the doctrine of God our Saviour in all things. %%% Not purloining, but shewing all good fidelity; that they may adorn the doctrine of God our Saviour in all things. 57TIT002.011 For the grace of God that bringeth salvation hath appeared to all men, %%% For the grace of God that bringeth salvation hath appeared to all men, 57TIT002.012 Teaching us that, denying ungodliness and worldly lusts, we should live soberly, righteously, and godly, in this present world; %%% Teaching us that, denying ungodliness and worldly lusts, we should live soberly, righteously, and godly, in this present world; 57TIT002.013 Looking for that blessed hope, and the glorious appearing of the great God and our Saviour Jesus Christ; %%% Looking for that blessed hope, and the glorious appearing of the great God and our Saviour Jesus Christ; 57TIT002.014 Who gave himself for us, that he might redeem us from all iniquity, and purify unto himself a peculiar people, zealous of good works. %%% Who gave himself for us, that he might redeem us from all iniquity, and purify unto himself a peculiar people, zealous of good works. 57TIT002.015 These things speak, and exhort, and rebuke with all authority. Let no man despise thee. %%% These things speak, and exhort, and rebuke with all authority. Let no man despise thee. 57TIT003.001 Put them in mind to be subject to principalities and powers, to obey magistrates, to be ready to every good work, %%% Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi, 57TIT003.002 To speak evil of no man, to be no brawlers, but gentle, shewing all meekness unto all men. %%% obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna. 57TIT003.003 For we ourselves also were sometimes foolish, disobedient, deceived, serving divers lusts and pleasures, living in malice and envy, hateful, and hating one another. %%% Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuweereza okwegomba n'ebinyumu ebitali bimu, nga tubeera mu ttima n'obuggya, abeekyayisa, era nga tukyawagana. 57TIT003.004 But after that the kindness and love of God our Saviour toward man appeared, %%% Naye obulungi bw'Omulokozi waffe Katonda n'okwagala kwe eri abantu bwe byalabika, 57TIT003.005 Not by works of righteousness which we have done, but according to his mercy he saved us, by the washing of regeneration, and renewing of the Holy Ghost; %%% n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu, 57TIT003.006 Which he shed on us abundantly through Jesus Christ our Saviour; %%% gwe yatufukako olw'obugagga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe; 57TIT003.007 That being justified by his grace, we should be made heirs according to the hope of eternal life. %%% nga tumaze okuweebwa obutuukirivu olw'ekisa kye oyo, tulyoke tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. 57TIT003.008 This is a faithful saying, and these things I will that thou affirm constantly, that they which have believed in God might be careful to maintain good works. These things are good and profitable unto men. %%% Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu: 57TIT003.009 But avoid foolish questions, and genealogies, and contentions, and strivings about the law; for they are unprofitable and vain. %%% naye empaka ez'obusiru n'ebitabo ebirimu endyo z'okuzaalibwa n'ennyombo n'okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu. 57TIT003.010 A man that is an heretick after the first and second admonition reject; %%% Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogw'olubereberye n'ogw'okubiri, omugaananga, 57TIT003.011 Knowing that he that is such is subverted, and sinneth, being condemned of himself. %%% ng'omanya ng'ali ng'oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yekka omusango. 57TIT003.012 When I shall send Artemas unto thee, or Tychicus, be diligent to come unto me to Nicopolis: for I have determined there to winter. %%% Bwe ntumanga Atema gy'oli oba Tukiko, fuba okujja gye ndi mu Nikopoli: kubanga nteesezza okumalira eyo ebiro eby'empewo. 57TIT003.013 Bring Zenas the lawyer and Apollos on their journey diligently, that nothing be wanting unto them. %%% Fuba okubasibirira Zeena ow'amateeka ne Apolo, baleme okubulwa ekintu. 57TIT003.014 And let ours also learn to maintain good works for necessary uses, that they be not unfruitful. %%% Era abaffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala. 57TIT003.015 All that are with me salute thee. Greet them that love us in the faith. Grace be with you all. Amen. %%% Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. 58HEB001.001 God, who at sundry times and in divers manners spake in time past unto the fathers by the prophets, %%% Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi, 58HEB001.002 Hath in these last days spoken unto us by his Son, whom he hath appointed heir of all things, by whom also he made the worlds; %%% mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna; 58HEB001.003 Who being the brightness of his glory, and the express image of his person, and upholding all things by the word of his power, when he had by himself purged our sins, sat down on the right hand of the Majesty on high; %%% oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu; 58HEB001.004 Being made so much better than the angels, as he hath by inheritance obtained a more excellent name than they. %%% ng'asinga obulungi bamalayika bw'ati nga bwe yasikira erinnya eribakira bo. 58HEB001.005 For unto which of the angels said he at any time, Thou art my Son, this day have I begotten thee? And again, I will be to him a Father, and he shall be to me a Son? %%% Kubanga ani ku bamalayika gwe yali abuuliddeko nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe? era nate nti Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga Mwana gye ndi? 58HEB001.006 And again, when he bringeth in the firstbegotten into the world, he saith, And let all the angels of God worship him. %%% Era nate bw'aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga. 58HEB001.007 And of the angels he saith, Who maketh his angels spirits, and his ministers a flame of fire. %%% Era ayogera ku bamalayika nti Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be ennimi z'omuliro: 58HEB001.008 But unto the Son he saith, Thy throne, O God, is for ever and ever: a sceptre of righteousness is the sceptre of thy kingdom. %%% naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo \ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo. 58HEB001.009 Thou hast loved righteousness, and hated iniquity; therefore God, even thy God, hath anointed thee with the oil of gladness above thy fellows. %%% Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno. 58HEB001.010 And, Thou, Lord, in the beginning hast laid the foundation of the earth; and the heavens are the works of thine hands: %%% Era nti Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo: 58HEB001.011 They shall perish; but thou remainest; and they all shall wax old as doth a garment; %%% Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera: N'ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; 58HEB001.012 And as a vesture shalt thou fold them up, and they shall be changed: but thou art the same, and thy years shall not fail. %%% Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa: Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegiriggwaawo. 58HEB001.013 But to which of the angels said he at any time, Sit on my right hand, until I make thine enemies thy footstool? %%% Naye ku malayika ki gwe yali ayogeddeko nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo? 58HEB001.014 Are they not all ministering spirits, sent forth to minister for them who shall be heirs of salvation? %%% Bonna si gy'emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw'abo abagenda okusikira obulokozi? 58HEB002.001 Therefore we ought to give the more earnest heed to the things which we have heard, lest at any time we should let them slip. %%% Kyekivudde kitugwanira okusinga ennyo okulowooleza ddala ebyawulirwa, kabekasinge tuwaba ne tubivaako. 58HEB002.002 For if the word spoken by angels was stedfast, and every transgression and disobedience received a just recompence of reward; %%% Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ey'ensonga; 58HEB002.003 How shall we escape, if we neglect so great salvation; which at the first began to be spoken by the Lord, and was confirmed unto us by them that heard him; %%% ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira; 58HEB002.004 God also bearing them witness, both with signs and wonders, and with divers miracles, and gifts of the Holy Ghost, according to his own will? %%% era Katonda ng'ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu by'amagero era ne mu by'amaanyi ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, nga bwe yayagalanga Yekka. 58HEB002.005 For unto the angels hath he not put in subjection the world to come, whereof we speak. %%% Kubanga bamalayika si be yafuza ensi egenda okubaawo, gye twogerako. 58HEB002.006 But one in a certain place testified, saying, What is man, that thou art mindful of him? or the son of man, that thou visitest him? %%% Naye waliwo ekifo omu we yategeereza, ng'ayogera nti Omuntu kiki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira? 58HEB002.007 Thou madest him a little lower than the angels; thou crownedst him with glory and honour, and didst set him over the works of thy hands: %%% Wamukola okubulako akatono okuba nga bamalayika; Wamussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, N'omufuza emirimu egy'emikono gyo: 58HEB002.008 Thou hast put all things in subjection under his feet. For in that he put all in subjection under him, he left nothing that is not put under him. But now we see not yet all things put under him. %%% Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye. Kubanga mu kuteeka ebintu byonna wansi we teyaggyako kintu obutakiteeka wansi we. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. 58HEB002.009 But we see Jesus, who was made a little lower than the angels for the suffering of death, crowned with glory and honour; that he by the grace of God should taste death for every man. %%% Naye tutunuulira oyo eyakolebwa okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu, olw'okubonaabona okw'okufa ng'assibwako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, olw'ekisa kya Katonda alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu. 58HEB002.010 For it became him, for whom are all things, and by whom are all things, in bringing many sons unto glory, to make the captain of their salvation perfect through sufferings. %%% Kubanga kyamusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era eyabikozesa byonna, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe olw'ebibonoobono. 58HEB002.011 For both he that sanctifieth and they who are sanctified are all of one: for which cause he is not ashamed to call them brethren, %%% Kubanga oyo atukuza era n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab'oluganda, 58HEB002.012 Saying, I will declare thy name unto my brethren, in the midst of the church will I sing praise unto thee. %%% ng'ayogera nti Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro. 58HEB002.013 And again, I will put my trust in him. And again, Behold I and the children which God hath given me. %%% Era nate nti Nze nnaamwesiganga oyo. Era nate nti Laba nze n'abaana Katonda be yampa. 58HEB002.014 Forasmuch then as the children are partakers of flesh and blood, he also himself likewise took part of the same; that through death he might destroy him that had the power of death, that is, the devil; %%% Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani; 58HEB002.015 And deliver them who through fear of death were all their lifetime subject to bondage. %%% era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa. 58HEB002.016 For verily he took not on him the nature of angels; but he took on him the seed of Abraham. %%% Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu. 58HEB002.017 Wherefore in all things it behoved him to be made like unto his brethren, that he might be a merciful and faithful high priest in things pertaining to God, to make reconciliation for the sins of the people. %%% Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi by'abantu. 58HEB002.018 For in that he himself hath suffered being tempted, he is able to succour them that are tempted. %%% Kubanga olw'okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng'akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa. 58HEB003.001 Wherefore, holy brethren, partakers of the heavenly calling, consider the Apostle and High Priest of our profession, Christ Jesus; %%% Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eddiini gwe twatula, Yesu; 58HEB003.002 Who was faithful to him that appointed him, as also Moses was faithful in all his house. %%% eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna. 58HEB003.003 For this man was counted worthy of more glory than Moses, inasmuch as he who hath builded the house hath more honour than the house. %%% Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'azimba ennyumba bw'abeera n'ettendo eringi okusinga ennyumba. 58HEB003.004 For every house is builded by some man; but he that built all things is God. %%% Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda. 58HEB003.005 And Moses verily was faithful in all his house, as a servant, for a testimony of those things which were to be spoken after; %%% Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng'omuddu, olw'okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa; 58HEB003.006 But Christ as a son over his own house; whose house are we, if we hold fast the confidence and the rejoicing of the hope firm unto the end. %%% naye Kristo yali mwesigwa ye ng'omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y'oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n'okwenyumiriza okw'okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero. 58HEB003.007 Wherefore (as the Holy Ghost saith, To day if ye will hear his voice, %%% Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'ayogera nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, 58HEB003.008 Harden not your hearts, as in the provocation, in the day of temptation in the wilderness: %%% Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa, Nga ku lunaku olw'okukemerwa mu ddungu, 58HEB003.009 When your fathers tempted me, proved me, and saw my works forty years. %%% Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza, Ne balaba ebikolwa byange emyaka amakumi ana. 58HEB003.010 Wherefore I was grieved with that generation, and said, They do alway err in their heart; and they have not known my ways. %%% Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe: Naye abo tebaategeera makubo gange; 58HEB003.011 So I sware in my wrath, They shall not enter into my rest.) %%% Nga bwe nnalayira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange. 58HEB003.012 Take heed, brethren, lest there be in any of you an evil heart of unbelief, in departing from the living God. %%% Mwekuume, ab'oluganda, omutima omubi ogw'obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw'okuva ku Katonda omulamu: 58HEB003.013 But exhort one another daily, while it is called To day; lest any of you be hardened through the deceitfulness of sin. %%% naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero; omuntu yenna ku mmwe alemenga okukakanyazibwa n'obulimba bw'ekibi: 58HEB003.014 For we are made partakers of Christ, if we hold the beginning of our confidence stedfast unto the end; %%% kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, oba nga tunaakwatiranga ddala okusuubira kwaffe okusoose nga kunywedde okutuusa enkomerero: 58HEB003.015 While it is said, To day if ye will hear his voice, harden not your hearts, as in the provocation. %%% nga bwe kikyayogerwa nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa. 58HEB003.016 For some, when they had heard, did provoke: howbeit not all that came out of Egypt by Moses. %%% Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwaza? si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa? 58HEB003.017 But with whom was he grieved forty years? was it not with them that had sinned, whose carcases fell in the wilderness? %%% Era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? si abo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu? 58HEB003.018 And to whom sware he that they should not enter into his rest, but to them that believed not? %%% Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye, wabula obo abataagonda? 58HEB003.019 So we see that they could not enter in because of unbelief. %%% Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw'obutakkiriza. 58HEB004.001 Let us therefore fear, lest, a promise being left us of entering into his rest, any of you should seem to come short of it. %%% Kale tutyenga nti okusuubiza okw'okuyingira mu kiwummulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko. 58HEB004.002 For unto us was the gospel preached, as well as unto them: but the word preached did not profit them, not being mixed with faith in them that heard it. %%% Kubanga naffe twabuulirwa enjiri, era nga bo: naye ekigambo eky'okuwulira tekyabagasa bo, kubanga tebaagattibwa mu kukkiriza wamu n'abo abaawulira. 58HEB004.003 For we which have believed do enter into rest, as he said, As I have sworn in my wrath, if they shall enter into my rest: although the works were finished from the foundation of the world. %%% Kubanga ffe abaamala okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange: newakubadde ng'emirimu gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi. 58HEB004.004 For he spake in a certain place of the seventh day on this wise, And God did rest the seventh day from all his works. %%% Kubanga waliwo w'ayogerera ku lunaku olw'omusanvu bw'ati, nti Katonda n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna; 58HEB004.005 And in this place again, If they shall enter into my rest. %%% era nate ne mu kino nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange. 58HEB004.006 Seeing therefore it remaineth that some must enter therein, and they to whom it was first preached entered not in because of unbelief: %%% Kale kubanga kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n'abo abaasooka okubuulirwa, enjiri ne batayingira olw'obutagonda, 58HEB004.007 Again, he limiteth a certain day, saying in David, To day, after so long a time; as it is said, To day if ye will hear his voice, harden not your hearts. %%% nate ayawula olunaku gundi, ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi bwe biti, nti Leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye, Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe. 58HEB004.008 For if Jesus had given them rest, then would he not afterward have spoken of another day. %%% Kuba singa Yoswa yabawummuza, teyandyogedde ku lunaku lulala oluvannyuma lw'ebyo. 58HEB004.009 There remaineth therefore a rest to the people of God. %%% Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda. 58HEB004.010 For he that is entered into his rest, he also hath ceased from his own works, as God did from his. %%% Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng'awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye. 58HEB004.011 Let us labour therefore to enter into that rest, lest any man fall after the same example of unbelief. %%% Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey'obutagonda. 58HEB004.012 For the word of God is quick, and powerful, and sharper than any twoedged sword, piercing even to the dividing asunder of soul and spirit, and of the joints and marrow, and is a discerner of the thoughts and intents of the heart. %%% Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima. 58HEB004.013 Neither is there any creature that is not manifest in his sight: but all things are naked and opened unto the eyes of him with whom we have to do. %%% So siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe. 58HEB004.014 Seeing then that we have a great high priest, that is passed into the heavens, Jesus the Son of God, let us hold fast our profession. %%% Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okwatula kwaffe. 58HEB004.015 For we have not an high priest which cannot be touched with the feeling of our infirmities; but was in all points tempted like as we are, yet without sin. %%% Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi. 58HEB004.016 Let us therefore come boldly unto the throne of grace, that we may obtain mercy, and find grace to help in time of need. %%% Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga. 58HEB005.001 For every high priest taken from among men is ordained for men in things pertaining to God, that he may offer both gifts and sacrifices for sins: %%% Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'aggibwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi: 58HEB005.002 Who can have compassion on the ignorant, and on them that are out of the way; for that he himself also is compassed with infirmity. %%% ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu; 58HEB005.003 And by reason hereof he ought, as for the people, so also for himself, to offer for sins. %%% era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era bwe kityo ku lulwe yennyini, okuwangayo olw'ebibi. 58HEB005.004 And no man taketh this honour unto himself, but he that is called of God, as was Aaron. %%% So omuntu yenna teyeetwalira yekka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni. 58HEB005.005 So also Christ glorified not himself to be made an high priest; but he that said unto him, Thou art my Son, to day have I begotten thee. %%% Era bw'atyo Kristo teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamugamba nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe: 58HEB005.006 As he saith also in another place, Thou art a priest for ever after the order of Melchisedec. %%% era nga bw'ayogera awalala nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. 58HEB005.007 Who in the days of his flesh, when he had offered up prayers and supplications with strong crying and tears unto him that was able to save him from death, and was heard in that he feared; %%% Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n'okukaaba ennyo n'amaziga, era bwe yawulirwa olw'okutya kwe Katonda, 58HEB005.008 Though he were a Son, yet learned he obedience by the things which he suffered; %%% newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona: 58HEB005.009 And being made perfect, he became the author of eternal salvation unto all them that obey him; %%% awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira; 58HEB005.010 Called of God an high priest after the order of Melchisedec. %%% Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. 58HEB005.011 Of whom we have many things to say, and hard to be uttered, seeing ye are dull of hearing. %%% Gwe tulinako ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuuse baggavu b'amatu. 58HEB005.012 For when for the time ye ought to be teachers, ye have need that one teach you again which be the first principles of the oracles of God; and are become such as have need of milk, and not of strong meat. %%% Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw'ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby'olubereberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo. 58HEB005.013 For every one that useth milk is unskilful in the word of righteousness: for he is a babe. %%% Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto. 58HEB005.014 But strong meat belongeth to them that are of full age, even those who by reason of use have their senses exercised to discern both good and evil. %%% Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw'okugakoza okwa wulanga obulungi n'obubi. 58HEB006.001 Therefore leaving the principles of the doctrine of Christ, let us go on unto perfection; not laying again the foundation of repentance from dead works, and of faith toward God, %%% Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda, 58HEB006.002 Of the doctrine of baptisms, and of laying on of hands, and of resurrection of the dead, and of eternal judgment. %%% okuyigiriza okw'okubatiza, n'okuteekako emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutaggwaawo. 58HEB006.003 And this will we do, if God permit. %%% Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw'anaayagala. 58HEB006.004 For it is impossible for those who were once enlightened, and have tasted of the heavenly gift, and were made partakers of the Holy Ghost, %%% Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, 58HEB006.005 And have tasted the good word of God, and the powers of the world to come, %%% ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja, 58HEB006.006 If they shall fall away, to renew them again unto repentance; seeing they crucify to themselves the Son of God afresh, and put him to an open shame. %%% ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu. 58HEB006.007 For the earth which drinketh in the rain that cometh oft upon it, and bringeth forth herbs meet for them by whom it is dressed, receiveth blessing from God: %%% Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala enva ezibasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda: 58HEB006.008 But that which beareth thorns and briers is rejected, and is nigh unto cursing; whose end is to be burned. %%% naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesiimibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa. 58HEB006.009 But, beloved, we are persuaded better things of you, and things that accompany salvation, though we thus speak. %%% Naye, abaagalwa, twetegerezza ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n'obulokozi, newakubadde nga twogedde bwe tutyo: 58HEB006.010 For God is not unrighteous to forget your work and labour of love, which ye have shewed toward his name, in that ye have ministered to the saints, and do minister. %%% kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza. 58HEB006.011 And we desire that every one of you do shew the same diligence to the full assurance of hope unto the end: %%% Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero: 58HEB006.012 That ye be not slothful, but followers of them who through faith and patience inherit the promises. %%% mulemenga okubeera abagayaavu, naye abagoberera abo olw'okukkiriza n'okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa. 58HEB006.013 For when God made promise to Abraham, because he could swear by no greater, he sware by himself, %%% Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka 58HEB006.014 Saying, Surely blessing I will bless thee, and multiplying I will multiply thee. %%% ng'ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n'okwaza nnaakwazanga. 58HEB006.015 And so, after he had patiently endured, he obtained the promise. %%% Bw'atyo bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa. 58HEB006.016 For men verily swear by the greater: and an oath for confirmation is to them an end of all strife. %%% Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa. 58HEB006.017 Wherein God, willing more abundantly to shew unto the heirs of promise the immutability of his counsel, confirmed it by an oath: %%% Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng'ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab'ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka: 58HEB006.018 That by two immutable things, in which it was impossible for God to lie, we might have a strong consolation, who have fled for refuge to lay hold upon the hope set before us: %%% olw'ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe; 58HEB006.019 Which hope we have as an anchor of the soul, both sure and stedfast, and which entereth into that within the veil; %%% lye tulina ng'essika ery'obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira munda w'eggigi. 58HEB006.020 Whither the forerunner is for us entered, even Jesus, made an high priest for ever after the order of Melchisedec. %%% Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. 58HEB007.001 For this Melchisedec, king of Salem, priest of the most high God, who met Abraham returning from the slaughter of the kings, and blessed him; %%% Kubanga Merukizeddeeki oyo kabaka w’e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, eyasisinkana Ibulayimu ng'akomawo ng'ava okutta bakabaka, n'amusabira omukisa, 58HEB007.002 To whom also Abraham gave a tenth part of all; first being by interpretation King of righteousness, and after that also King of Salem, which is, King of peace; %%% era Ibulayimu gwe yagabira ekitundu eky'ekkumi ekya byonna (eky'oluberereberye, mu kutegeezebwa, kabaka wa butuukirivu, era eky'okubiri, kabaka w'e Ssaalemi, ye kabaka ow'emirembe; 58HEB007.003 Without father, without mother, without descent, having neither beginning of days, nor end of life; but made like unto the Son of God; abideth a priest continually. %%% atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda), abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna, 58HEB007.004 Now consider how great this man was, unto whom even the patriarch Abraham gave the tenth of the spoils. %%% Kale mulowooze omuntu oyo bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajja omukulu gwe yawa ekitundu eky'ekkumi ku munyago ogw'okwebonaanya. 58HEB007.005 And verily they that are of the sons of Levi, who receive the office of the priesthood, have a commandment to take tithes of the people according to the law, that is, of their brethren, though they come out of the loins of Abraham: %%% N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby'ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubadde ng'abo bava mu ntumbwe za Ibulayimu: 58HEB007.006 But he whose descent is not counted from them received tithes of Abraham, and blessed him that had the promises. %%% naye oyo, atabalibwa mu kika kyabwe, yasolooza Ibulayimu n'asabira omukisa nnannyini byasuubizibwa. 58HEB007.007 And without all contradiction the less is blessed of the better. %%% Naye, tekyegaanika n'akatono, omuto yasabirwa omukulu omukisa. 58HEB007.008 And here men that die receive tithes; but there he receiveth them, of whom it is witnessed that he liveth. %%% Era mu ekyo abaweebwa ebitundu eby'ekkumi be bantu abafa; naye mu kiri abiweebwa ye oyo ategeezebwa nga mulamu. 58HEB007.009 And as I may so say, Levi also, who receiveth tithes, payed tithes in Abraham. %%% Era, okwogera bwe kuti, ne Leevi, aweebwa omusolo, yaguweerayo mu Ibulayimu; 58HEB007.010 For he was yet in the loins of his father, when Melchisedec met him. %%% kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeideeki bwe yamusisinkana. 58HEB007.011 If therefore perfection were by the Levitical priesthood, (for under it the people received the law,) what further need was there that another priest should rise after the order of Melchisedec, and not be called after the order of Aaron? %%% Kale okutuukirira singa kwaliwo lwa bwakabona obw'Ekileevi (kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo), kiki ekyetaaza nate kabona ow'okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni? 58HEB007.012 For the priesthood being changed, there is made of necessity a change also of the law. %%% Kubanga obwakabona bwe buwaaayisibwa, era n'amateeka tegalema kuwaanyisibwa. 58HEB007.013 For he of whom these things are spoken pertaineth to another tribe, of which no man gave attendance at the altar. %%% Kubanga oyo eyayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutavanga muntu yenna eyali aweerezza ku kyoto. 58HEB007.014 For it is evident that our Lord sprang out of Juda; of which tribe Moses spake nothing concerning priesthood. %%% Kubanga kitegeerekese ga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky'atayogerako bigambo ya bakabona. 58HEB007.015 And it is yet far more evident: for that after the similitude of Melchisedec there ariseth another priest, %%% N'ebyo byeyogera nnyo okutegeerekeka, oba nga ayimuka kabona ow'okubiri ng'ekifaananyi kya Merukizeddeeki bwe kiri, 58HEB007.016 Who is made, not after the law of a carnal commandment, but after the power of an endless life. %%% atalondebwa ng'amateeka bwe gali agalimu ekiragiro ky'omubiri, wabula ng'amaanyi bwe gali ag'obulamu obutakutuka: 58HEB007.017 For he testifieth, Thou art a priest for ever after the order of Melchisedec. %%% kubanga ategeezebwa nti Oli kabona okutuusa emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. 58HEB007.018 For there is verily a disannulling of the commandment going before for the weakness and unprofitableness thereof. %%% Kubanga ekiragiro ekyasooka kijjulukuka olw'obunafu n'obutagasa bwakyo 58HEB007.019 For the law made nothing perfect, but the bringing in of a better hope did; by the which we draw nigh unto God. %%% (kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza), essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda. 58HEB007.020 And inasmuch as not without an oath he was made priest: %%% Era bwe wataabula kulayira kirayiro 58HEB007.021 (For those priests were made without an oath; but this with an oath by him that said unto him, The Lord sware and will not repent, Thou art a priest for ever after the order of Melchisedec:) %%% (kubanga bo baafuulibwa bakabona awatali kirayiro; naye oyo awamu n'ekirayiro yafuulibwa oyo amwogerako nti Mukama yalayira, era talyejjusa, nti Oli kabona okutuusa emirembe gyonna); 58HEB007.022 By so much was Jesus made a surety of a better testament. %%% era ne Yesu bwe yafuuka bw'atyo omuyima w'endagaano esinga obulungi. 58HEB007.023 And they truly were many priests, because they were not suffered to continue by reason of death: %%% Nabo bangi baafuulibwa bakabona, kubanga okufa kwabalobera okubeereranga: 58HEB007.024 But this man, because he continueth ever, hath an unchangeable priesthood. %%% naye oyo, kubanga abeerera okutuusa emirembe gyonna, alina obwakabona obutavaawo. 58HEB007.025 Wherefore he is able also to save them to the uttermost that come unto God by him, seeing he ever liveth to make intercession for them. %%% Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga. 58HEB007.026 For such an high priest became us, who is holy, harmless, undefiled, separate from sinners, and made higher than the heavens; %%% Kubanga kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okukira eggulu; 58HEB007.027 Who needeth not daily, as those high priests, to offer up sacrifice, first for his own sins, and then for the people's: for this he did once, when he offered up himself. %%% atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. 58HEB007.028 For the law maketh men high priests which have infirmity; but the word of the oath, which was since the law, maketh the Son, who is consecrated for evermore. %%% Kubanga amateeka galonda abantu okuba bakabona abasinga obukulu, abalina obunafu; naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna. 58HEB008.001 Now of the things which we have spoken this is the sum: We have such an high priest, who is set on the right hand of the throne of the Majesty in the heavens; %%% Kale mu bigambo bye twogedde kino kye kikolo: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw'atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu ggulu, 58HEB008.002 A minister of the sanctuary, and of the true tabernacle, which the Lord pitched, and not man. %%% omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, Mukama gye yasimba, si muntu. 58HEB008.003 For every high priest is ordained to offer gifts and sacrifices: wherefore it is of necessity that this man have somewhat also to offer. %%% Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka: kyekiva kimugwanira n'oyo okubeera n'ekintu eky'okuwaayo. 58HEB008.004 For if he were on earth, he should not be a priest, seeing that there are priests that offer gifts according to the law: %%% Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, nga waliwo abawaayo ebirabo ng'amateeka bwe gali; 58HEB008.005 Who serve unto the example and shadow of heavenly things, as Moses was admonished of God when he was about to make the tabernacle: for, See, saith he, that thou make all things according to the pattern shewed to thee in the mount. %%% abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga ayogera nti Tolemanga kukola byonna ng'ekyokulabirako bwe kiri kye walagibwa ku lusozi. 58HEB008.006 But now hath he obtained a more excellent ministry, by how much also he is the mediator of a better covenant, which was established upon better promises. %%% Naye kaakano aweereddwa okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw'ebyasuubizibwa ebisinga obulungi. 58HEB008.007 For if that first covenant had been faultless, then should no place have been sought for the second. %%% Kuba endagaano eri ey'olubereberye singa teyaliiko kya kunenyezebwa, tewandinoonyezebbwa bbanga ery'ey'okubiri. 58HEB008.008 For finding fault with them, he saith, Behold, the days come, saith the Lord, when I will make a new covenant with the house of Israel and with the house of Judah: %%% Kubanga bw'abanenya ayogera nti Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, Bwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda; 58HEB008.009 Not according to the covenant that I made with their fathers in the day when I took them by the hand to lead them out of the land of Egypt; because they continued not in my covenant, and I regarded them not, saith the Lord. %%% Si ng'endagaano gye nnalagaana ne bajjajja baabwe Ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'Emisiri: Kubanga abo tebaanywerera mu ndagaano yange, Nange ne mbaleka okubalaba, bw'ayogera Mukama. 58HEB008.010 For this is the covenant that I will make with the house of Israel after those days, saith the Lord; I will put my laws into their mind, and write them in their hearts: and I will be to them a God, and they shall be to me a people: %%% Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; Nange nnaabeeranga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi: 58HEB008.011 And they shall not teach every man his neighbour, and every man his brother, saying, Know the Lord: for all shall know me, from the least to the greatest. %%% So buli muntu tebaliyigiriza munne, Na buli muntu muganda we, ng'ayogera nti Manya Mukama: Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku mukulu mu bo. 58HEB008.012 For I will be merciful to their unrighteousness, and their sins and their iniquities will I remember no more. %%% Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate. 58HEB008.013 In that he saith, A new covenant, he hath made the first old. Now that which decayeth and waxeth old is ready to vanish away. %%% Bw'ayogera nti Endagaano empya ey'olubereberye aba agikaddiyizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiri kumpi n'okuggwaawo. 58HEB009.001 Then verily the first covenant had also ordinances of divine service, and a worldly sanctuary. %%% Era n'endagaano ey'olubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez'okusinzanga Katonda, n'ekifo ekitukuvu, eky'omu nsi. 58HEB009.002 For there was a tabernacle made; the first, wherein was the candlestick, and the table, and the shewbread; which is called the sanctuary. %%% Kubanga eweema yakolwa, ey'olubereberye eyalimu ekikondo ky'ettabaaza n'emmeeza n'emigaati egy'okulaga; awaayitibwa Awatukuvu. 58HEB009.003 And after the second veil, the tabernacle which is called the Holiest of all; %%% Era ennyuma w'eggigi ery'okubiri yaliyo eweema eyitibwa Entukuvu ennyo; 58HEB009.004 Which had the golden censer, and the ark of the covenant overlaid round about with gold, wherein was the golden pot that had manna, and Aaron's rod that budded, and the tables of the covenant; %%% eyalimu ekyoterezo ekya zaabu; n'essanduuko ey'endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emaanu, n'omuggo gwa Alooni ogwaloka, n'ebipande eby'endagaano; 58HEB009.005 And over it the cherubims of glory shadowing the mercyseat; of which we cannot now speak particularly. %%% ne kungulu ku yo bakerubi ab'ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey'okusaasira; bye tutayinza kwogerako kaakano kinnakimu. 58HEB009.006 Now when these things were thus ordained, the priests went always into the first tabernacle, accomplishing the service of God. %%% Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingira mu weema ey'olubereberye obutayosa, nga batuukiriza emirimu egy'okuweereza; 58HEB009.007 But into the second went the high priest alone once every year, not without blood, which he offered for himself, and for the errors of the people: %%% naye mu eri ey'okubiri ayingiramu kabona asinga obukulu yekka, omulundi gumu buli mwaka, si awatali musaayi, gw'awaayo ku lulwe ye n'olw'obutamanya bw'a bantu. 58HEB009.008 The Holy Ghost this signifying, that the way into the holiest of all was not yet made manifest, while as the first tabernacle was yet standing: %%% Omwoyo Omutukuvu ng'ategeeza kino, ng'ekkubo eritwala mu kifo ekitukuvu terinnalabisibwa, ng'eweema ey'olubereberye ekyayimiriddewo; 58HEB009.009 Which was a figure for the time then present, in which were offered both gifts and sacrifices, that could not make him that did the service perfect, as pertaining to the conscience; %%% eyo kye kifaananyi olw'ebiro ebiriwo; ekirimu ebirabo era ne ssaddaaka ebiweebwayo ebitayinza kumutuukiriza oyo aweereza mu bigambo by'omwoyo, 58HEB009.010 Which stood only in meats and drinks, and divers washings, and carnal ordinances, imposed on them until the time of reformation. %%% kubanga ze mpisa ezaalagirwa ez'omubiri obubiri (era awamu n'ez'okulya n'ez'okunywa n'ez'okunaaba okutali kumu) ezaateekebwawo okutuusa ku biro eby'okudda obuggya. 58HEB009.011 But Christ being come an high priest of good things to come, by a greater and more perfect tabernacle, not made with hands, that is to say, not of this building; %%% Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu ow'ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n'ayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno, 58HEB009.012 Neither by the blood of goats and calves, but by his own blood he entered in once into the holy place, having obtained eternal redemption for us. %%% so si lwa musaayi gwa mbuzi n'ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo. 58HEB009.013 For if the blood of bulls and of goats, and the ashes of an heifer sprinkling the unclean, sanctifieth to the purifying of the flesh: %%% Kuba oba ng'omusaayi gw'embuzi n'ente ennume n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambi, bitukuza okunaaza omubiri; 58HEB009.014 How much more shall the blood of Christ, who through the eternal Spirit offered himself without spot to God, purge your conscience from dead works to serve the living God? %%% omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw'Omwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu? 58HEB009.015 And for this cause he is the mediator of the new testament, that by means of death, for the redemption of the transgressions that were under the first testament, they which are called might receive the promise of eternal inheritance. %%% Era ye kyava abeera omubaka w'endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaano ey'olubereberye, abayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw'obusika obutaggwaawo. 58HEB009.016 For where a testament is, there must also of necessity be the death of the testator. %%% Kubanga awaba endagaano ey'obusika, kigwana okubaawo okufa kw'oyo eyagiragaana. 58HEB009.017 For a testament is of force after men are dead: otherwise it is of no strength at all while the testator liveth. %%% Kubanga endagaano ey'obusika enywerera awaba okufa: kubanga yali etuukirizza ekyagiragaanyisa eyagiragaana ng'akyali mulamu? 58HEB009.018 Whereupon neither the first testament was dedicated without blood. %%% Era n'endagaano ey'olubereberye kyeyava erema okusookebwa awatali musaayi. 58HEB009.019 For when Moses had spoken every precept to all the people according to the law, he took the blood of calves and of goats, with water, and scarlet wool, and hyssop, and sprinkled both the book, and all the people, %%% Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'ennyana n'embuzi, wamu n'amazzi n'ebyoya by'endiga ebimyufu n'ezoobu, n'amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna, 58HEB009.020 Saying, This is the blood of the testament which God hath enjoined unto you. %%% ng'ayogera nti Guno gwe musaayi gw'endagaano Katonda gye yabalagira. 58HEB009.021 Moreover he sprinkled with blood both the tabernacle, and all the vessels of the ministry. %%% Era nate eweema n'ebintu byonna eby'okuweereza n'abimansirangako omusaayi bw'atyo. 58HEB009.022 And almost all things are by the law purged with blood; and without shedding of blood is no remission. %%% Era mu mateeka kubulako katono ebintu byonna okunaazibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa. 58HEB009.023 It was therefore necessary that the patterns of things in the heavens should be purified with these; but the heavenly things themselves with better sacrifices than these. %%% Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n'ebyo, naye eby'omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo. 58HEB009.024 For Christ is not entered into the holy places made with hands, which are the figures of the true; but into heaven itself, now to appear in the presence of God for us: %%% Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n'emikono ekyafaanana ng'ekyo eky'amazima naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda, ku lwaffe: 58HEB009.025 Nor yet that he should offer himself often, as the high priest entereth into the holy place every year with blood of others; %%% so si kwewangayo mirundi mingi; nga kabona asinga obukulu bw'ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka n'omusaayi ogutali gugwe; 58HEB009.026 For then must he often have suffered since the foundation of the world: but now once in the end of the world hath he appeared to put away sin by the sacrifice of himself. %%% kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi emingi okuva ku kutondebwa kw'ensi: naye kaakano omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe alabise okuggyawo ekibi olw'okwewaayo yennyini. 58HEB009.027 And as it is appointed unto men once to die, but after this the judgment: %%% Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango; 58HEB009.028 So Christ was once offered to bear the sins of many; and unto them that look for him shall he appear the second time without sin unto salvation. %%% era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogw'okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw'obulokozi. 58HEB010.001 For the law having a shadow of good things to come, and not the very image of the things, can never with those sacrifices which they offered year by year continually make the comers thereunto perfect. %%% Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka; tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera. 58HEB010.002 For then would they not have ceased to be offered? because that the worshippers once purged should have had no more conscience of sins. %%% Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu tebandibadde na kwetegeerako bibi nate. 58HEB010.003 But in those sacrifices there is a remembrance again made of sins every year. %%% Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka. 58HEB010.004 For it is not possible that the blood of bulls and of goats should take away sins. %%% Kubanga tekiyinzika omusaayi gw'ente ennume n'embuzi okuggyako ebibi. 58HEB010.005 Wherefore when he cometh into the world, he saith, Sacrifice and offering thou wouldest not, but a body hast thou prepared me: %%% Ng'ajja mu nsi, kyava ayogera nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omubiri; 58HEB010.006 In burnt offerings and sacrifices for sin thou hast had no pleasure. %%% Tewasiima ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi; 58HEB010.007 Then said I, Lo, I come (in the volume of the book it is written of me,) to do thy will, O God. %%% Ne ndyoka njogera nti Laba nzize (Mu muzingo gw'ekitabo ekyampandiikwako) Okukola by'oyagala, ai Katonda. 58HEB010.008 Above when he said, Sacrifice and offering and burnt offerings and offering for sin thou wouldest not, neither hadst pleasure therein; which are offered by the law; %%% Bw'ayogera waggulu nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala so tewabisiima (ebyo bye biweebwayo ng'amateeka bwe gali), 58HEB010.009 Then said he, Lo, I come to do thy will, O God. He taketh away the first, that he may establish the second. %%% n'alyoka ayogera nti Laba, nzize okukola by'oyagala. Aggyawo eky'oubereberye, alyoke anyweze eky'okubiri. 58HEB010.010 By the which will we are sanctified through the offering of the body of Jesus Christ once for all. %%% Mu ebyo by'ayagala twatukuzibwa olw'okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu. 58HEB010.011 And every priest standeth daily ministering and offering oftentimes the same sacrifices, which can never take away sins: %%% Na buli kabona ayimirira buli lunaku ng'aweereza ng'awaayo emirundi emingi ssaddaaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kugyako bibi emirembe gyonna: 58HEB010.012 But this man, after he had offered one sacrifice for sins for ever, sat down on the right hand of God; %%% naye oyo bwe yamala okuwaayo saddaaka emu olw'ebibi okutuusa mirembe gyonna, n'alyoka atuula mu mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; 58HEB010.013 From henceforth expecting till his enemies be made his footstool. %%% ng'alindirira oluvannyuna abalabe be okufuusibwa entebe y'ebigere bye. 58HEB010.014 For by one offering he hath perfected for ever them that are sanctified. %%% Kubanga olw'okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa. 58HEB010.015 Whereof the Holy Ghost also is a witness to us: for after that he had said before, %%% Era n'Omwoyo Omutukuvu ye mujulirwa gye tuli: kubanga bw'amala okwogera nti 58HEB010.016 This is the covenant that I will make with them after those days, saith the Lord, I will put my laws into their hearts, and in their minds will I write them; %%% Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika; n'alyoka ayogera nti 58HEB010.017 And their sins and iniquities will I remember no more. %%% N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate. 58HEB010.018 Now where remission of these is, there is no more offering for sin. %%% Naye awali okuggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw'ekibi. 58HEB010.019 Having therefore, brethren, boldness to enter into the holiest by the blood of Jesus, %%% Kale ab'oluganda, bwe tulina obugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw'omusaayi gwa Yesu, 58HEB010.020 By a new and living way, which he hath consecrated for us, through the veil, that is to say, his flesh; %%% mu kkubo lye yatukubira, eriggya eddamu, eriyita mu ggigi, gwe mubiri gwe; 58HEB010.021 And having an high priest over the house of God; %%% era bwe tulina kabona omunene afuga ennyumba ya Katonda; 58HEB010.022 Let us draw near with a true heart in full assurance of faith, having our hearts sprinkled from an evil conscience, and our bodies washed with pure water. %%% tusemberenga n'omwoyo ogw'amazima olw'okukkiriza okutuukiridde, emitima gyaffe nga mansirwako okuggyamu omwoyo omubi, n'emibiri gyaffe nga ginaazibwa n'amazzi amalungi: 58HEB010.023 Let us hold fast the profession of our faith without wavering; (for he is faithful that promised;) %%% tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa: 58HEB010.024 And let us consider one another to provoke unto love and to good works: %%% era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n'ebikolwa ebirungi; 58HEB010.025 Not forsaking the assembling of ourselves together, as the manner of some is; but exhorting one another: and so much the more, as ye see the day approaching. %%% obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka. 58HEB010.026 For if we sin wilfully after that we have received the knowledge of the truth, there remaineth no more sacrifice for sins, %%% Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw'ebibi, 58HEB010.027 But a certain fearful looking for of judgment and fiery indignation, which shall devour the adversaries. %%% wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe. 58HEB010.028 He that despised Moses' law died without mercy under two or three witnesses: %%% Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu: 58HEB010.029 Of how much sorer punishment, suppose ye, shall he be thought worthy, who hath trodden under foot the Son of God, and hath counted the blood of the covenant, wherewith he was sanctified, an unholy thing, and hath done despite unto the Spirit of grace? %%% mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa? 58HEB010.030 For we know him that hath said, Vengeance belongeth unto me, I will recompense, saith the Lord. And again, The Lord shall judge his people. %%% Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omusango abantu be. 58HEB010.031 It is a fearful thing to fall into the hands of the living God. %%% Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu. 58HEB010.032 But call to remembrance the former days, in which, after ye were illuminated, ye endured a great fight of afflictions; %%% Naye mujjukire ennaku ez'edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okufuba okunene okw'ebibonoobono; 58HEB010.033 Partly, whilst ye were made a gazingstock both by reproaches and afflictions; and partly, whilst ye became companions of them that were so used. %%% olulala bwe mwafuuka ekyerolerwa olw'ebivume n'okulaba ennaku; olulala, bwe mwassa ekimu n'abo abaakolerwa ebyo. 58HEB010.034 For ye had compassion of me in my bonds, and took joyfully the spoiling of your goods, knowing in yourselves that ye have in heaven a better and an enduring substance. %%% Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby'olubeerera. 58HEB010.035 Cast not away therefore your confidence, which hath great recompence of reward. %%% Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene. 58HEB010.036 For ye have need of patience, that, after ye have done the will of God, ye might receive the promise. %%% Kubanga mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa. 58HEB010.037 For yet a little while, and he that shall come will come, and will not tarry. %%% Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka, so talirwa. 58HEB010.038 Now the just shall live by faith: but if any man draw back, my soul shall have no pleasure in him. %%% Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza: Era bw'addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira. 58HEB010.039 But we are not of them who draw back unto perdition; but of them that believe to the saving of the soul. %%% Naye ffe tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw'okulokola obulamu. 58HEB011.001 Now faith is the substance of things hoped for, the evidence of things not seen. %%% Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika. 58HEB011.002 For by it the elders obtained a good report. %%% Kubanga abakadde baategeerezebwa mu okwo. 58HEB011.003 Through faith we understand that the worlds were framed by the word of God, so that things which are seen were not made of things which do appear. %%% Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika. 58HEB011.004 By faith Abel offered unto God a more excellent sacrifice than Cain, by which he obtained witness that he was righteous, God testifying of his gifts: and by it he being dead yet speaketh. %%% Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n'obutuukirivu, Katonda bwe yategeereza ku birabo bye: era olw'okwo newakubadde nga yafa akyayogera. 58HEB011.005 By faith Enoch was translated that he should not see death; and was not found, because God had translated him: for before his translation he had this testimony, that he pleased God. %%% Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa obutalaba kufa; n'atalabika kubanga Katonda yamutwala: kubanga bwe yali nga tannatwalibwa yategeezebwa okusumibwa Katonda: 58HEB011.006 But without faith it is impossible to please him: for he that cometh to God must believe that he is, and that he is a rewarder of them that diligently seek him. %%% era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya. 58HEB011.007 By faith Noah, being warned of God of things not seen as yet, moved with fear, prepared an ark to the saving of his house; by the which he condemned the world, and became heir of the righteousness which is by faith. %%% Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya bulungi n'asiba eryato olw'okulokola ennyumba ye; kyeyava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza. 58HEB011.008 By faith Abraham, when he was called to go out into a place which he should after receive for an inheritance, obeyed; and he went out, not knowing whither he went. %%% Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; n'avaayo nga tamanyi gy'agenda. 58HEB011.009 By faith he sojourned in the land of promise, as in a strange country, dwelling in tabernacles with Isaac and Jacob, the heirs with him of the same promise: %%% Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo: 58HEB011.010 For he looked for a city which hath foundations, whose builder and maker is God. %%% kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba kye yazimba. 58HEB011.011 Through faith also Sara herself received strength to conceive seed, and was delivered of a child when she was past age, because she judged him faithful who had promised. %%% Olw'okukkiriza era ne Saala yennyini n'aweebwa amaanyi okuba olubuto newakubadde nga yali ayitiridde mu myaka, kubanga oyo eyasuubiza yamulowooza nga mwesigwa: 58HEB011.012 Therefore sprang there even of one, and him as good as dead, so many as the stars of the sky in multitude, and as the sand which is by the sea shore innumerable. %%% era kyebaava bazaalibwa oyo omu era eyali ng'afudde, abali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika. 58HEB011.013 These all died in faith, not having received the promises, but having seen them afar off, and were persuaded of them, and embraced them, and confessed that they were strangers and pilgrims on the earth. %%% Abo bonna baafiiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi. 58HEB011.014 For they that say such things declare plainly that they seek a country. %%% Kubanga aboogera bwe batyo boolesa nga banoonya ensi ey'obutaka. 58HEB011.015 And truly, if they had been mindful of that country from whence they came out, they might have had opportunity to have returned. %%% Era singa bajjukira ensi eri gye baavaamu, bandibadde n'ebbanga okuddayo. 58HEB011.016 But now they desire a better country, that is, an heavenly: wherefore God is not ashamed to be called their God: for he hath prepared for them a city. %%% Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu; Katonda kyava alema okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga. 58HEB011.017 By faith Abraham, when he was tried, offered up Isaac: and he that had received the promises offered up his only begotten son, %%% Olw'okukkiriza Ibulayimu; bwe yakemebwa, n'awaayo Isaaka; era eyaweebwa ebyasuubizibwa n'essanyu yali agenda okuwaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka; 58HEB011.018 Of whom it was said, That in Isaac shall thy seed be called: %%% eyagambibwa nti Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga: 58HEB011.019 Accounting that God was able to raise him up, even from the dead; from whence also he received him in a figure. %%% bwe yalowooza nga Katonda ayinza okuzuukiza mu bafu era; era mwe yamuweerwa mu kifaananyi. 58HEB011.020 By faith Isaac blessed Jacob and Esau concerning things to come. %%% Olw'okukkiriza Isaaka yasabira omukisa Yakobo ne Esawu, era mu bigambo ebyali bigenda okujja. 58HEB011.021 By faith Jacob, when he was a dying, blessed both the sons of Joseph; and worshipped, leaning upon the top of his staff. %%% Olw'okukkiriza Yakobo, bwe yali agenda okufa, yasabira omukisa abaana ba Yusufu bombiriri; n'asinza ng'akutamye ku musa gw'omuggo gwe. 58HEB011.022 By faith Joseph, when he died, made mention of the departing of the children of Israel; and gave commandment concerning his bones. %%% Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira eby'amagumba ge. 58HEB011.023 By faith Moses, when he was born, was hid three months of his parents, because they saw he was a proper child; and they were not afraid of the king's commandment. %%% Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamulaba nga mulungi; ne batatya kiragiro kya kabaka. 58HEB011.024 By faith Moses, when he was come to years, refused to be called the son of Pharaoh's daughter; %%% Olw'okukkiriza Musa, bwe yakula, n'agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo; 58HEB011.025 Choosing rather to suffer affliction with the people of God, than to enjoy the pleasures of sin for a season; %%% ng'asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n'abantu ba Katonda okukira okubanga n'okwesiima okw'ekibi okuggwaawo amangu; 58HEB011.026 Esteeming the reproach of Christ greater riches than the treasures in Egypt: for he had respect unto the recompence of the reward. %%% ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yeekaliriza empeera eyo. 58HEB011.027 By faith he forsook Egypt, not fearing the wrath of the king: for he endured, as seeing him who is invisible. %%% Olw'okukkiriza n'aleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiikiriza ng'alaba oyo atalabika. 58HEB011.028 Through faith he kept the passover, and the sprinkling of blood, lest he that destroyed the firstborn should touch them. %%% Olw'okukkiriza yakola Okuyitako n'okumansira omusaayi, eyazikiriza ababereberye aleme okubakomako. 58HEB011.029 By faith they passed through the Red sea as by dry land: which the Egyptians assaying to do were drowned. %%% Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ku lukalu: Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo. 58HEB011.030 By faith the walls of Jericho fell down, after they were compassed about seven days. %%% Olw'okukkiriza bbugwe wa Yeriko n'agwa, nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu. 58HEB011.031 By faith the harlot Rahab perished not with them that believed not, when she had received the spies with peace. %%% Olw'okukkiriza Lakabu omwenzi oyo teyazikiririra wamu n'abo abataagonda, bwe yasembeza abakessi emirembe. 58HEB011.032 And what shall I more say? for the time would fail me to tell of Gedeon, and of Barak, and of Samson, and of Jephthae; of David also, and Samuel, and of the prophets: %%% Njogere ki nate? Kubanga ebbanga linanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa; ku Dawudi ne Samwiri ne bannabbi: 58HEB011.033 Who through faith subdued kingdoms, wrought righteousness, obtained promises, stopped the mouths of lions, %%% olw'okukkiriza abo be baawangula obwakabaka, be baakola eby'obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, be baabuniza obumwa bw'empologoma, 58HEB011.034 Quenched the violence of fire, escaped the edge of the sword, out of weakness were made strong, waxed valiant in fight, turned to flight the armies of the aliens. %%% be baazikiza amaanyi g'omuliro, be badduka obwogi bw'ekitala, be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, be baafuuka abazira mu ntalo, be baagoba eggye ly'ab'amawanga. 58HEB011.035 Women received their dead raised to life again: and others were tortured, not accepting deliverance; that they might obtain a better resurrection: %%% Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi: 58HEB011.036 And others had trial of cruel mockings and scourgings, yea, moreover of bonds and imprisonment: %%% n'abalala ne bakemebwa nga baduulirwa era nga bakubibwa, era nate nga basibibwa ne bateekebwa mu kkomera: 58HEB011.037 They were stoned, they were sawn asunder, were tempted, were slain with the sword: they wandered about in sheepskins and goatskins; being destitute, afflicted, tormented; %%% baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala: baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi 58HEB011.038 (Of whom the world was not worthy:) they wandered in deserts, and in mountains, and in dens and caves of the earth. %%% (ensi beetaasaanira), nga bakyamira mu malungu ne ku nsozi ne mu mpuku ne mu bunnya obw'ensi. 58HEB011.039 And these all, having obtained a good report through faith, received not the promise: %%% N'abo bonna bwe baamala okutegeezebwa olw'okukkiriza kwabwe, ne batafuna ekyasuubizibwa, 58HEB011.040 God having provided some better thing for us, that they without us should not be made perfect. %%% Katonda bwe yatulabira edda ffe ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo. 58HEB012.001 Wherefore seeing we also are compassed about with so great a cloud of witnesses, let us lay aside every weight, and the sin which doth so easily beset us, and let us run with patience the race that is set before us, %%% Kale naffe, bwe tulina olufu lw'abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n'ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n'okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe, 58HEB012.002 Looking unto Jesus the author and finisher of our faith; who for the joy that was set before him endured the cross, despising the shame, and is set down at the right hand of the throne of God. %%% nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda. 58HEB012.003 For consider him that endured such contradiction of sinners against himself, lest ye be wearied and faint in your minds. %%% Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe. 58HEB012.004 Ye have not yet resisted unto blood, striving against sin. %%% Temunnawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana n'ekibi: 58HEB012.005 And ye have forgotten the exhortation which speaketh unto you as unto children, My son, despise not thou the chastening of the Lord, nor faint when thou art rebuked of him: %%% era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng'abaana nti Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga; 58HEB012.006 For whom the Lord loveth he chasteneth, and scourgeth every son whom he receiveth. %%% Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza. 58HEB012.007 If ye endure chastening, God dealeth with you as with sons; for what son is he whom the father chasteneth not? %%% Olw'okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki kitaawe gw'atakangavvula? 58HEB012.008 But if ye be without chastisement, whereof all are partakers, then are ye bastards, and not sons. %%% Naye bwe munaabeeranga awatali kukangavvulwa, okugwana okututuukako fenna, muli beebolereze, so si baana. 58HEB012.009 Furthermore we have had fathers of our flesh which corrected us, and we gave them reverence: shall we not much rather be in subjection unto the Father of spirits, and live? %%% Nate twalina bakitaffe ab'omubiri gwaffe abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w'emyoyo, ne tuba abalamu? 58HEB012.010 For they verily for a few days chastened us after their own pleasure; but he for our profit, that we might be partakers of his holiness. %%% Kubanga bo baatukangavvuliranga ennaku si nnyingi olw'okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe. 58HEB012.011 Now no chastening for the present seemeth to be joyous, but grievous: nevertheless afterward it yieldeth the peaceable fruit of righteousness unto them which are exercised thereby. %%% Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo; bye by'obutuukirivu. 58HEB012.012 Wherefore lift up the hands which hang down, and the feeble knees; %%% Kale mugololenga emikono egirengejja, n'amaviivi agakozimba; 58HEB012.013 And make straight paths for your feet, lest that which is lame be turned out of the way; but let it rather be healed. %%% era mukubirenga ebigere byammwe ama kubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi. 58HEB012.014 Follow peace with all men, and holiness, without which no man shall see the Lord: %%% Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama: 58HEB012.015 Looking diligently lest any man fail of the grace of God; lest any root of bitterness springing up trouble you, and thereby many be defiled; %%% nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna aweebuuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi; 58HEB012.016 Lest there be any fornicator, or profane person, as Esau, who for one morsel of meat sold his birthright. %%% walemenga okubeera omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'akawumbo k'emmere akamu. 58HEB012.017 For ye know how that afterward, when he would have inherited the blessing, he was rejected: for he found no place of repentance, though he sought it carefully with tears. %%% Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, n'agaanibwa (kubanga teyalaba bbanga lya kwenenyezaamu), newakubadde nga yagunoonya nnyo n'amaziga. 58HEB012.018 For ye are not come unto the mount that might be touched, and that burned with fire, nor unto blackness, and darkness, and tempest, %%% Kubanga temuzze ku lusozi olukwatibwako era olwaka n'omuliro, n'eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga, 58HEB012.019 And the sound of a trumpet, and the voice of words; which voice they that heard intreated that the word should not be spoken to them any more: %%% n'okuvuga kw'ekkondeere, n'eddoboozi ly'ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwako kigambo lwa kubiri: 58HEB012.020 (For they could not endure that which was commanded, And if so much as a beast touch the mountain, it shall be stoned, or thrust through with a dart: %%% kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja: 58HEB012.021 And so terrible was the sight, that Moses said, I exceedingly fear and quake:) %%% n'ebyalabika byali bya ntiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti Ntidde nnyo era nkankanye: 58HEB012.022 But ye are come unto mount Sion, and unto the city of the living God, the heavenly Jerusalem, and to an innumerable company of angels, %%% naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky'omu ggulu, n'eri obukumi bwa bamalayika, 58HEB012.023 To the general assembly and church of the firstborn, which are written in heaven, and to God the Judge of all, and to the spirits of just men made perfect, %%% eri ekkuŋŋaaniro eddene era ekkanisa ey'ababereberye abaawandiikibwa mu ggulu, n'eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatuukirivu abaatuukirizibwa, 58HEB012.024 And to Jesus the mediator of the new covenant, and to the blood of sprinkling, that speaketh better things than that of Abel. %%% n'eri Yesu omubaka w'endagaano empya, n'eri omusaayi ogw'okumansira ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri. 58HEB012.025 See that ye refuse not him that speaketh. For if they escaped not who refused him that spake on earth, much more shall not we escape, if we turn away from him that speaketh from heaven: %%% Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng'ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng'ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka: 58HEB012.026 Whose voice then shook the earth: but now he hath promised, saying, Yet once more I shake not the earth only, but also heaven. %%% eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu. 58HEB012.027 And this word, Yet once more, signifieth the removing of those things that are shaken, as of things that are made, that those things which cannot be shaken may remain. %%% N'ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw'ebyo ebikankanyizibwa, ng'ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 58HEB012.028 Wherefore we receiving a kingdom which cannot be moved, let us have grace, whereby we may serve God acceptably with reverence and godly fear: %%% Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n'ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n'okwegendereza n'okutya: 58HEB012.029 For our God is a consuming fire. %%% kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya. 58HEB013.001 Let brotherly love continue. %%% Okwagala ab'oluganda kubeerengawo. 58HEB013.002 Be not forgetful to entertain strangers: for thereby some have entertained angels unawares. %%% Temwerabiranga kusembeza bagenyi: kubanga olw'okwo waaliwo abaasembeza bamalayika nga tebamanyi. 58HEB013.003 Remember them that are in bonds, as bound with them; and them which suffer adversity, as being yourselves also in the body. %%% Mujjukirenga abasibe, ng'abasibirwa awamu nabo; era n'abalaba ennaku, kubanga nammwe muli mu mubiri. 58HEB013.004 Marriage is honourable in all, and the bed undefiled: but whoremongers and adulterers God will judge. %%% Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango. 58HEB013.005 Let your conversation be without covetousness; and be content with such things as ye have: for he hath said, I will never leave thee, nor forsake thee. %%% Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono. 58HEB013.006 So that we may boldly say, The Lord is my helper, and I will not fear what man shall do unto me. %%% N'okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: Omuntu alinkola ki? 58HEB013.007 Remember them which have the rule over you, who have spoken unto you the word of God: whose faith follow, considering the end of their conversation. %%% Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y'empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe. 58HEB013.008 Jesus Christ the same yesterday, and to day, and for ever. %%% Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe. 58HEB013.009 Be not carried about with divers and strange doctrines. For it is a good thing that the heart be established with grace; not with meats, which have not profited them that have been occupied therein. %%% Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya: kubanga kirungi omutima okunywezebwa n'ekisa; so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu. 58HEB013.010 We have an altar, whereof they have no right to eat which serve the tabernacle. %%% Tulina ekyoto abaweereza eby'omu weema kye batalagirwa kuliirangako. 58HEB013.011 For the bodies of those beasts, whose blood is brought into the sanctuary by the high priest for sin, are burned without the camp. %%% Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira. 58HEB013.012 Wherefore Jesus also, that he might sanctify the people with his own blood, suffered without the gate. %%% Era ne Yesu kyeyava abonabonera ebweru wa wankaaki, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe ye. 58HEB013.013 Let us go forth therefore unto him without the camp, bearing his reproach. %%% Kale tufulume okugenda gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ekivume kye. 58HEB013.014 For here have we no continuing city, but we seek one to come. %%% Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja. 58HEB013.015 By him therefore let us offer the sacrifice of praise to God continually, that is, the fruit of our lips giving thanks to his name. %%% Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye. 58HEB013.016 But to do good and to communicate forget not: for with such sacrifices God is well pleased. %%% Naye okukola obulungi n'okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng'ezo zisanyusa nnyo Katonda. 58HEB013.017 Obey them that have the rule over you, and submit yourselves: for they watch for your souls, as they that must give account, that they may do it with joy, and not with grief: for that is unprofitable for you. %%% Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, ng'abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe. 58HEB013.018 Pray for us: for we trust we have a good conscience, in all things willing to live honestly. %%% Mutusabirenga: kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo omulungi, nga twagala okubanga n'empisa ennungi mu byonna. 58HEB013.019 But I beseech you the rather to do this, that I may be restored to you the sooner. %%% Era okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli. 58HEB013.020 Now the God of peace, that brought again from the dead our Lord Jesus, that great shepherd of the sheep, through the blood of the everlasting covenant, %%% Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu, 58HEB013.021 Make you perfect in every good work to do his will, working in you that which is wellpleasing in his sight, through Jesus Christ; to whom be glory for ever and ever. Amen. %%% abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. 58HEB013.022 And I beseech you, brethren, suffer the word of exhortation: for I have written a letter unto you in few words. %%% Naye mbabuulirira, ab'oluganda, mugumiikirizenga ekigambo eky'okubuulirira: kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono. 58HEB013.023 Know ye that our brother Timothy is set at liberty; with whom, if he come shortly, I will see you. %%% Mumanye nga muganda waffe Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye. 58HEB013.024 Salute all them that have the rule over you, and all the saints. They of Italy salute you. %%% Mulamuse bonna abafuga, n'abatukuvu bonna. Ab'omu Italiya babalamusizza. 58HEB013.025 Grace be with you all. Amen. %%% Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Amiina. 59JAM001.001 James, a servant of God and of the Lord Jesus Christ, to the twelve tribes which are scattered abroad, greeting. %%% Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, eri ebika ekkumi n'ebibiri ebyasaasaana, mbalamusizza. 59JAM001.002 My brethren, count it all joy when ye fall into divers temptations; %%% Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu; 59JAM001.003 Knowing this, that the trying of your faith worketh patience. %%% nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. 59JAM001.004 But let patience have her perfect work, that ye may be perfect and entire, wanting nothing. %%% Era omulimu gw'okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna. 59JAM001.005 If any of you lack wisdom, let him ask of God, that giveth to all men liberally, and upbraideth not; and it shall be given him. %%% Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. 59JAM001.006 But let him ask in faith, nothing wavering. For he that wavereth is like a wave of the sea driven with the wind and tossed. %%% Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky'abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng'ejjengo ery'ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. 59JAM001.007 For let not that man think that he shall receive any thing of the Lord. %%% Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe 59JAM001.008 A double minded man is unstable in all his ways. %%% omuntu ow'emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna. 59JAM001.009 Let the brother of low degree rejoice in that he is exalted: %%% Naye ow'oluganda omukopi yeenyumirizenga olw'obukulu bwe: 59JAM001.010 But the rich, in that he is made low: because as the flower of the grass he shall pass away. %%% era n'omugagga yeenyumirizenga olw'okukopawala kwe: kubanga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo. 59JAM001.011 For the sun is no sooner risen with a burning heat, but it withereth the grass, and the flower thereof falleth, and the grace of the fashion of it perisheth: so also shall the rich man fade away in his ways. %%% Kubanga enjuba evaayo n'omusana omungi n'ewotosa omuddo; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obulungi bw'ekifaananyi kyagwo ne bubula: era n'omugagga bw'atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe. 59JAM001.012 Blessed is the man that endureth temptation: for when he is tried, he shall receive the crown of life, which the Lord hath promised to them that love him. %%% Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga bw'alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey'obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala. 59JAM001.013 Let no man say when he is tempted, I am tempted of God: for God cannot be tempted with evil, neither tempteth he any man: %%% Omuntu yenna bw'akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna: 59JAM001.014 But every man is tempted, when he is drawn away of his own lust, and enticed. %%% naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe ye n'asendebwasendebwa. 59JAM001.015 Then when lust hath conceived, it bringeth forth sin: and sin, when it is finished, bringeth forth death. %%% Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula; ne kuzaala okufa. 59JAM001.016 Do not err, my beloved brethren. %%% Temwerimbalimbanga, baganda bange abaagalwa. 59JAM001.017 Every good gift and every perfect gift is from above, and cometh down from the Father of lights, with whom is no variableness, neither shadow of turning. %%% Buli kirabo kirungi na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newankubadde ekisiikirize eky'okukyuka. 59JAM001.018 Of his own will begat he us with the word of truth, that we should be a kind of firstfruits of his creatures. %%% Olw'okuteesa kwe yatuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere ng'omwaka omubereberye ogw'ebitonde bye. 59JAM001.019 Wherefore, my beloved brethren, let every man be swift to hear, slow to speak, slow to wrath: %%% Ekyo mukimanyi, baganda bange abaagalwa. Naye buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala 59JAM001.020 For the wrath of man worketh not the righteousness of God. %%% kubanga obusungu bw'omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda. 59JAM001.021 Wherefore lay apart all filthiness and superfluity of naughtiness, and receive with meekness the engrafted word, which is able to save your souls. %%% Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe. 59JAM001.022 But be ye doers of the word, and not hearers only, deceiving your own selves. %%% Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. 59JAM001.023 For if any be a hearer of the word, and not a doer, he is like unto a man beholding his natural face in a glass: %%% Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyeeraba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu: 59JAM001.024 For he beholdeth himself, and goeth his way, and straightway forgetteth what manner of man he was. %%% kubanga yeeraba n'agenda, amangu ago ne yeerabira bw'afaananye. 59JAM001.025 But whoso looketh into the perfect law of liberty, and continueth therein, he being not a forgetful hearer, but a doer of the work, this man shall be blessed in his deed. %%% Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe. 59JAM001.026 If any man among you seem to be religious, and bridleth not his tongue, but deceiveth his own heart, this man's religion is vain. %%% Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw'ataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe eddiini y’oyo teriiko ky'egasa. 59JAM001.027 Pure religion and undefiled before God and the Father is this, To visit the fatherless and widows in their affliction, and to keep himself unspotted from the world. %%% Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi. 59JAM002.001 My brethren, have not the faith of our Lord Jesus Christ, the Lord of glory, with respect of persons. %%% Baganda bange, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ate ne muba n'okusosolanga mu bantu. 59JAM002.002 For if there come unto your assembly a man with a gold ring, in goodly apparel, and there come in also a poor man in vile raiment; %%% Kubanga bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby'obuyonjo, era n'omwavu ayambadde enziina n'ayingira, 59JAM002.003 And ye have respect to him that weareth the gay clothing, and say unto him, Sit thou here in a good place; and say to the poor, Stand thou there, or sit here under my footstool: %%% nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti Ggwe tuula wano awalungi era ne mugamba omwavu nti Ggwe yimirira eri, oba tuula wansi awali akatebe k'ebigere byange; 59JAM002.004 Are ye not then partial in yourselves, and are become judges of evil thoughts? %%% nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abasazi b'ensonga ab'ebirowoozo ebibi? 59JAM002.005 Hearken, my beloved brethren, Hath not God chosen the poor of this world rich in faith, and heirs of the kingdom which he hath promised to them that love him? %%% Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda teyalonda abalina obwavu bw'omu nsi okubeeranga n'obugagga obw'okukkiriza, n'okusikira obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala? 59JAM002.006 But ye have despised the poor. Do not rich men oppress you, and draw you before the judgment seats? %%% Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini awasalirwa emisango? 59JAM002.007 Do not they blaspheme that worthy name by the which ye are called? %%% Singa bavuma erinnya eddungi lye muyitibwa? 59JAM002.008 If ye fulfil the royal law according to the scripture, Thou shalt love thy neighbour as thyself, ye do well: %%% Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka, mukola bulungi. 59JAM002.009 But if ye have respect to persons, ye commit sin, and are convinced of the law as transgressors. %%% Naye bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng’abonoonyi 59JAM002.010 For whosoever shall keep the whole law, and yet offend in one point, he is guilty of all. %%% Kubanga omuntu yenna bw'aba akwata amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azzizza omusango gwa gonna. 59JAM002.011 For he that said, Do not commit adultery, said also, Do not kill. Now if thou commit no adultery, yet if thou kill, thou art become a transgressor of the law. %%% Kubanga oyo eyayogera nti Toyendanga, ate yayogera nti Tottanga. Kale bw'otoyenda naye n'otta, ng'ofuuse mwonoonyi w'amateeka. 59JAM002.012 So speak ye, and so do, as they that shall be judged by the law of liberty. %%% Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abagenda okusalirwa omusango n'amateeka ag'eddembe. 59JAM002.013 For he shall have judgment without mercy, that hath shewed no mercy; and mercy rejoiceth against judgment. %%% Kubanga omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira: okusaasira kujaguliza ku musango. 59JAM002.014 What doth it profit, my brethren, though a man say he hath faith, and have not works? can faith save him? %%% Kigasa kitya, baganda bange, omuntu bw'ayogera ng'alina okukkiriza, naye n'ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola? 59JAM002.015 If a brother or sister be naked, and destitute of daily food, %%% Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala, 59JAM002.016 And one of you say unto them, Depart in peace, be ye warmed and filled; notwithstanding ye give them not those things which are needful to the body; what doth it profit? %%% era omu ku mmwe bw'abagamba nti Mugende n'emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya? 59JAM002.017 Even so faith, if it hath not works, is dead, being alone. %%% Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde. 59JAM002.018 Yea, a man may say, Thou hast faith, and I have works: shew me thy faith without thy works, and I will shew thee my faith by my works. %%% Naye omuntu alyogera nti Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa: ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange ndikulaga okukkiriza kwange. 59JAM002.019 Thou believest that there is one God; thou doest well: the devils also believe, and tremble. %%% Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi: era ne bassetaani bakkiriza, ne bakankana. 59JAM002.020 But wilt thou know, O vain man, that faith without works is dead? %%% Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng'okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa? 59JAM002.021 Was not Abraham our father justified by works, when he had offered Isaac his son upon the altar? %%% Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto? 59JAM002.022 Seest thou how faith wrought with his works, and by works was faith made perfect? %%% Olaba ng'okukkiriza kwakolera wamu n'ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw’ebikolwa bye: 59JAM002.023 And the scripture was fulfilled which saith, Abraham believed God, and it was imputed unto him for righteousness: and he was called the Friend of God. %%% ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu; n'ayitibwa mukwano gwa Katonda. 59JAM002.024 Ye see then how that by works a man is justified, and not by faith only. %%% Mulaba ng'omuntu aweebwa butuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka. 59JAM002.025 Likewise also was not Rahab the harlot justified by works, when she had received the messengers, and had sent them out another way? %%% Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kubo eddala? 59JAM002.026 For as the body without the spirit is dead, so faith without works is dead also. %%% Kuba ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufude, era n'okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde. 59JAM003.001 My brethren, be not many masters, knowing that we shall receive the greater condemnation. %%% Temubeeranga bayigiriza bangi, baganda bange, nga mumanyi nga tulisalirwa omusango ogusinga obunene. 59JAM003.002 For in many things we offend all. If any man offend not in word, the same is a perfect man, and able also to bridle the whole body. %%% Kubanga mu bingi tusobya fenna. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna. 59JAM003.003 Behold, we put bits in the horses' mouths, that they may obey us; and we turn about their whole body. %%% Naye bwe tuteeka ebyuma eby'embalaasi mu mimwa gyazo ziryoke zitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyazo gyonna. 59JAM003.004 Behold also the ships, which though they be so great, and are driven of fierce winds, yet are they turned about with a very small helm, whithersoever the governor listeth. %%% Laba, era n’amaato, newakubadde nga manene bwe gatyo, era nga gatwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye egagoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe. 59JAM003.005 Even so the tongue is a little member, and boasteth great things. Behold, how great a matter a little fire kindleth! %%% Era n’olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, ne lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo. 59JAM003.006 And the tongue is a fire, a world of iniquity: so is the tongue among our members, that it defileth the whole body, and setteth on fire the course of nature; and it is set on fire of hell. %%% N'olulimi muliro: ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena. 59JAM003.007 For every kind of beasts, and of birds, and of serpents, and of things in the sea, is tamed, and hath been tamed of mankind: %%% Kubanga buli ngeri ey'ensolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja bifugika era byafugibwa abantu: 59JAM003.008 But the tongue can no man tame; it is an unruly evil, full of deadly poison. %%% naye olulimi siwali muntu ayinza kulufuga; bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta. 59JAM003.009 Therewith bless we God, even the Father; and therewith curse we men, which are made after the similitude of God. %%% Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakolerwa mu kifaananyi kya Katonda: 59JAM003.010 Out of the same mouth proceedeth blessing and cursing. My brethren, these things ought not so to be. %%% mu kamwa akamu mwe muva okutendereza n'okukolima. Baganda bange, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo. 59JAM003.011 Doth a fountain send forth at the same place sweet water and bitter? %%% Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n'agakaawa mu liiso erimu? 59JAM003.012 Can the fig tree, my brethren, bear olive berries? either a vine, figs? so can no fountain both yield salt water and fresh. %%% Omutiini guyinza, baganda bange, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi. 59JAM003.013 Who is a wise man and endued with knowledge among you? let him shew out of a good conversation his works with meekness of wisdom. %%% Ani alina amagezi n'okutegeera mu mmwe? Alagenga mu mpisa ennungi ebikolwa bye mu magezi amawombeefu. 59JAM003.014 But if ye have bitter envying and strife in your hearts, glory not, and lie not against the truth. %%% Naye bwe muba n'obuggya obukambwe n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima. 59JAM003.015 This wisdom descendeth not from above, but is earthly, sensual, devilish. %%% Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani. 59JAM003.016 For where envying and strife is, there is confusion and every evil work. %%% Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi. 59JAM003.017 But the wisdom that is from above is first pure, then peaceable, gentle, and easy to be intreated, full of mercy and good fruits, without partiality, and without hypocrisy. %%% Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi. 59JAM003.018 And the fruit of righteousness is sown in peace of them that make peace. %%% Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe. 59JAM004.001 From whence come wars and fightings among you? come they not hence, even of your lusts that war in your members? %%% Entalo ziva wa n'okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe? 59JAM004.002 Ye lust, and have not: ye kill, and desire to have, and cannot obtain: ye fight and war, yet ye have not, because ye ask not. %%% Mwegomba so temulina: mutta, era mwegomba, ao temuyinza kufuna: mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba. 59JAM004.003 Ye ask, and receive not, because ye ask amiss, that ye may consume it upon your lusts. %%% Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi; mulyoke mubikoze okwegomba kwammwe. 59JAM004.004 Ye adulterers and adulteresses, know ye not that the friendship of the world is enmity with God? whosoever therefore will be a friend of the world is the enemy of God. %%% Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng'omukwano gw'ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw'ayagala okubeera mukwano gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda. 59JAM004.005 Do ye think that the scripture saith in vain, The spirit that dwelleth in us lusteth to envy? %%% Oba mulowooza ng'ekyawandiikibwa kyogerera bwereere? Omwoyo gwe yatuuza mu ffe gwegomba okuleeta obuggya? 59JAM004.006 But he giveth more grace. Wherefore he saith, God resisteth the proud, but giveth grace unto the humble. %%% Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. 59JAM004.007 Submit yourselves therefore to God. Resist the devil, and he will flee from you. %%% Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga. 59JAM004.008 Draw nigh to God, and he will draw nigh to you. Cleanse your hands, ye sinners; and purify your hearts, ye double minded. %%% Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri. 59JAM004.009 Be afflicted, and mourn, and weep: let your laughter be turned to mourning, and your joy to heaviness. %%% Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essaayu lifuuke okunakuwala. 59JAM004.010 Humble yourselves in the sight of the Lord, and he shall lift you up. %%% Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza. 59JAM004.011 Speak not evil one of another, brethren. He that speaketh evil of his brother, and judgeth his brother, speaketh evil of the law, and judgeth the law: but if thou judge the law, thou art not a doer of the law, but a judge. %%% Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango mateeka: naye bw'osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango. 59JAM004.012 There is one lawgiver, who is able to save and to destroy: who art thou that judgest another? %%% Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza, naye ggwe asalira omusango munno ggwe ani? 59JAM004.013 Go to now, ye that say, To day or to morrow we will go into such a city, and continue there a year, and buy and sell, and get gain: %%% Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi; tulimalayo omwaka gumu tulitunda tuliviisa amagoba: 59JAM004.014 Whereas ye know not what shall be on the morrow. For what is your life? It is even a vapour, that appeareth for a little time, and then vanisheth away. %%% naye nga temutegeera bya nkya Obulamu bwammwe buli nga kiki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo: 59JAM004.015 For that ye ought to say, If the Lord will, we shall live, and do this, or that. %%% we mwandyogeredde nti Mukama waffe bw’alyagala tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti. 59JAM004.016 But now ye rejoice in your boastings: all such rejoicing is evil. %%% Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe: okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi. 59JAM004.017 Therefore to him that knoweth to do good, and doeth it not, to him it is sin. %%% Kale amanya okukola obulungi n'atakola, kye kibi eri oyo. 59JAM005.001 Go to now, ye rich men, weep and howl for your miseries that shall come upon you. %%% Kale nno mwe abagagga, mukaabe mulire olw'ennaku ezijja ku mmwe. 59JAM005.002 Your riches are corrupted, and your garments are motheaten. %%% Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 59JAM005.003 Your gold and silver is cankered; and the rust of them shall be a witness against you, and shall eat your flesh as it were fire. Ye have heaped treasure together for the last days. %%% Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero. 59JAM005.004 Behold, the hire of the labourers who have reaped down your fields, which is of you kept back by fraud, crieth: and the cries of them which have reaped are entered into the ears of the Lord of sabaoth. %%% Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba: n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye. 59JAM005.005 Ye have lived in pleasure on the earth, and been wanton; ye have nourished your hearts, as in a day of slaughter. %%% Mwesanyusa ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mwegezzezza mu mitima gyammwe nga ku lunaku olw'okubaaga ebya ssava. 59JAM005.006 Ye have condemned and killed the just; and he doth not resist you. %%% Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye tabawakanya. 59JAM005.007 Be patient therefore, brethren, unto the coming of the Lord. Behold, the husbandman waiteth for the precious fruit of the earth, and hath long patience for it, until he receive the early and latter rain. %%% Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo. 59JAM005.008 Be ye also patient; stablish your hearts: for the coming of the Lord draweth nigh. %%% Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe: kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi. 59JAM005.009 Grudge not one against another, brethren, lest ye be condemned: behold, the judge standeth before the door. %%% Temwemulugunyanga, ab'oluganda, mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango: laba, omusazi w'emisango ayimiridde ku luggi. 59JAM005.010 Take, my brethren, the prophets, who have spoken in the name of the Lord, for an example of suffering affliction, and of patience. %%% Mutwale ekyokulabirako, ab'oluganda, eky'okubonyaabonyezebwa n'okugumiikiriza, bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 59JAM005.011 Behold, we count them happy which endure. Ye have heard of the patience of Job, and have seen the end of the Lord; that the Lord is very pitiful, and of tender mercy. %%% Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga: mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw'akola nga Mukama wa kisa kingi n'okusaasira. 59JAM005.012 But above all things, my brethren, swear not, neither by heaven, neither by the earth, neither by any other oath: but let your yea be yea; and your nay, nay; lest ye fall into condemnation. %%% Naye okusinga byonna, baganda bange temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n'ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango. 59JAM005.013 Is any among you afflicted? let him pray. Is any merry? let him sing psalms. %%% Waliwo mu mmwe omuntu ali obubi? asabenga. Waliwo asanyuka? ayimbenga eby'okutendereza Katonda. 59JAM005.014 Is any sick among you? let him call for the elders of the church; and let them pray over him, anointing him with oil in the name of the Lord: %%% Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe: 59JAM005.015 And the prayer of faith shall save the sick, and the Lord shall raise him up; and if he have committed sins, they shall be forgiven him. %%% n'okusaba kw'okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi birimuggibwako. 59JAM005.016 Confess your faults one to another, and pray one for another, that ye may be healed. The effectual fervent prayer of a righteous man availeth much. %%% Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo. 59JAM005.017 Elias was a man subject to like passions as we are, and he prayed earnestly that it might not rain: and it rained not on the earth by the space of three years and six months. %%% Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n'asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n'etatonnya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga. 59JAM005.018 And he prayed again, and the heaven gave rain, and the earth brought forth her fruit. %%% N'asaba nate; eggulu ne litonnyesa enkuba, ensi n'emeza ebibala byayo. 59JAM005.019 Brethren, if any of you do err from the truth, and one convert him; %%% Baganda bange, omuntu yenna mu mmwe bw'akyamanga okuva mu mazima, omuntu n'amala amukyusa, 59JAM005.020 Let him know, that he which converteth the sinner from the error of his way shall save a soul from death, and shall hide a multitude of sins. %%% ategeerenga ng'akyusa alina ebibi mu bukyamu obw'ekkubo lye alirokola obulamu mu kufa, era alibikka ku bibi bingi. 60P1E001.001 Peter, an apostle of Jesus Christ, to the strangers scattered throughout Pontus, Galatia, Cappadocia, Asia, and Bithynia, %%% Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya, 60P1E001.002 Elect according to the foreknowledge of God the Father, through sanctification of the Spirit, unto obedience and sprinkling of the blood of Jesus Christ: Grace unto you, and peace, be multiplied. %%% nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli. 60P1E001.003 Blessed be the God and Father of our Lord Jesus Christ, which according to his abundant mercy hath begotten us again unto a lively hope by the resurrection of Jesus Christ from the dead, %%% Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu, 60P1E001.004 To an inheritance incorruptible, and undefiled, and that fadeth not away, reserved in heaven for you, %%% tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu, 60P1E001.005 Who are kept by the power of God through faith unto salvation ready to be revealed in the last time. %%% amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero. 60P1E001.006 Wherein ye greatly rejoice, though now for a season, if need be, ye are in heaviness through manifold temptations: %%% Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira, 60P1E001.007 That the trial of your faith, being much more precious than of gold that perisheth, though it be tried with fire, might be found unto praise and honour and glory at the appearing of Jesus Christ: %%% okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa: 60P1E001.008 Whom having not seen, ye love; in whom, though now ye see him not, yet believing, ye rejoice with joy unspeakable and full of glory: %%% gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa: 60P1E001.009 Receiving the end of your faith, even the salvation of your souls. %%% nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu. 60P1E001.010 Of which salvation the prophets have enquired and searched diligently, who prophesied of the grace that should come unto you: %%% Eby'obulokozi obwo bannabbi abaalagulanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga: 60P1E001.011 Searching what, or what manner of time the Spirit of Christ which was in them did signify, when it testified beforehand the sufferings of Christ, and the glory that should follow. %%% nga banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera. 60P1E001.012 Unto whom it was revealed, that not unto themselves, but unto us they did minister the things, which are now reported unto you by them that have preached the gospel unto you with the Holy Ghost sent down from heaven; which things the angels desire to look into. %%% Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza. 60P1E001.013 Wherefore gird up the loins of your mind, be sober, and hope to the end for the grace that is to be brought unto you at the revelation of Jesus Christ; %%% Kale musibenga ebimyu by'amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa; 60P1E001.014 As obedient children, not fashioning yourselves according to the former lusts in your ignorance: %%% ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'edda okw'omu butamanya bwammwe: 60P1E001.015 But as he which hath called you is holy, so be ye holy in all manner of conversation; %%% naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna; 60P1E001.016 Because it is written, Be ye holy; for I am holy. %%% kubanga kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu. 60P1E001.017 And if ye call on the Father, who without respect of persons judgeth according to every man's work, pass the time of your sojourning here in fear: %%% Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise: 60P1E001.018 Forasmuch as ye know that ye were not redeemed with corruptible things, as silver and gold, from your vain conversation received by tradition from your fathers; %%% nga mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe; 60P1E001.019 But with the precious blood of Christ, as of a lamb without blemish and without spot: %%% wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi, ng'ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo: 60P1E001.020 Who verily was foreordained before the foundation of the world, but was manifest in these last times for you, %%% eyategeerebwa edda ensi nga tezinnatondebwa, naye n'alabisibwa ku nkomerero y'ebiro ku lwammwe, 60P1E001.021 Who by him do believe in God, that raised him up from the dead, and gave him glory; that your faith and hope might be in God. %%% abakkiriza ku bubwe Katonda eyamuzuukiza mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okukkiriza kwammwe n'okusuubira biryoke bibeerenga mu Katonda. 60P1E001.022 Seeing ye have purified your souls in obeying the truth through the Spirit unto unfeigned love of the brethren, see that ye love one another with a pure heart fervently: %%% Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima n'okufuba okungi: 60P1E001.023 Being born again, not of corruptible seed, but of incorruptible, by the word of God, which liveth and abideth for ever. %%% bwe mwazaalibwa omulundi ogw'okubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera. 60P1E001.024 For all flesh is as grass, and all the glory of man as the flower of grass. The grass withereth, and the flower thereof falleth away: %%% Kubanga Omubiri gwonna guli ng'omuddo, N'ekitiibwa kyagwo kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa: 60P1E001.025 But the word of the Lord endureth for ever. And this is the word which by the gospel is preached unto you. %%% Naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n'emirembe. Era ekyo kye kigambo eky'enjiri eky'abajulirwa. 60P1E002.001 Wherefore laying aside all malice, and all guile, and hypocrisies, and envies, and all evil speakings, %%% Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwoma n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna, 60P1E002.002 As newborn babes, desire the sincere milk of the word, that ye may grow thereby: %%% ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba; galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu 60P1E002.003 If so be ye have tasted that the Lord is gracious. %%% oba nga rnwalega ku Mukama waffe bw'ali omulungi: 60P1E002.004 To whom coming, as unto a living stone, disallowed indeed of men, but chosen of God, and precious, %%% nga mujja eri oyo, ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi, 60P1E002.005 Ye also, as lively stones, are built up a spiritual house, an holy priesthood, to offer up spiritual sacrifices, acceptable to God by Jesus Christ. %%% era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey'omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu okuwangayo ssaddaaka ez'omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo. 60P1E002.006 Wherefore also it is contained in the scripture, Behold, I lay in Sion a chief corner stone, elect, precious: and he that believeth on him shall not be confounded. %%% Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi: Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi. 60P1E002.007 Unto you therefore which believe he is precious: but unto them which be disobedient, the stone which the builders disallowed, the same is made the head of the corner, %%% Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi: naye eri abatakkiriza, Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda; 60P1E002.008 And a stone of stumbling, and a rock of offence, even to them which stumble at the word, being disobedient: whereunto also they were appointed. %%% era Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula; kubanga beesittala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekerwawo. 60P1E002.009 But ye are a chosen generation, a royal priesthood, an holy nation, a peculiar people; that ye should shew forth the praises of him who hath called you out of darkness into his marvellous light: %%% Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo: 60P1E002.010 Which in time past were not a people, but are now the people of God: which had not obtained mercy, but now have obtained mercy. %%% edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa. 60P1E002.011 Dearly beloved, I beseech you as strangers and pilgrims, abstain from fleshly lusts, which war against the soul; %%% Abaagalwa, mbeegayirira ng'abayise n'abatambuze, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu; 60P1E002.012 Having your conversation honest among the Gentiles: that, whereas they speak against you as evildoers, they may by your good works, which they shall behold, glorify God in the day of visitation. %%% nga mulina empisa zammwe mu b'amawanga ennungi; nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw'okulabirwamu. 60P1E002.013 Submit yourselves to every ordinance of man for the Lord's sake: whether it be to the king, as supreme; %%% Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna; 60P1E002.014 Or unto governors, as unto them that are sent by him for the punishment of evildoers, and for the praise of them that do well. %%% oba abaamasaza, nga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi. 60P1E002.015 For so is the will of God, that with well doing ye may put to silence the ignorance of foolish men: %%% Kubanga Katonda bw'ayagala bw'atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obulungi: 60P1E002.016 As free, and not using your liberty for a cloke of maliciousness, but as the servants of God. %%% ng'ab'eddembe, so si ng'abalina eddembe lyammwe olw'okukisa obubi, naye ng'abaddu ba Katonda. 60P1E002.017 Honour all men. Love the brotherhood. Fear God. Honour the king. %%% Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka. 60P1E002.018 Servants, be subject to your masters with all fear; not only to the good and gentle, but also to the froward. %%% Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe. 60P1E002.019 For this is thankworthy, if a man for conscience toward God endure grief, suffering wrongfully. %%% Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw'agumiikiriza okulumwa olw'okujjukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awatali nsonga. 60P1E002.020 For what glory is it, if, when ye be buffeted for your faults, ye shall take it patiently? but if, when ye do well, and suffer for it, ye take it patiently, this is acceptable with God. %%% Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda. 60P1E002.021 For even hereunto were ye called: because Christ also suffered for us, leaving us an example, that ye should follow his steps: %%% Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye: 60P1E002.022 Who did no sin, neither was guile found in his mouth: %%% ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke: 60P1E002.023 Who, when he was reviled, reviled not again; when he suffered, he threatened not; but committed himself to him that judgeth righteously: %%% bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga: 60P1E002.024 Who his own self bare our sins in his own body on the tree, that we, being dead to sins, should live unto righteousness: by whose stripes ye were healed. %%% eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya. 60P1E002.025 For ye were as sheep going astray; but are now returned unto the Shepherd and Bishop of your souls. %%% Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe. 60P1E003.001 Likewise, ye wives, be in subjection to your own husbands; that, if any obey not the word, they also may without the word be won by the conversation of the wives; %%% Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw'empisa z'abakazi baabwe; 60P1E003.002 While they behold your chaste conversation coupled with fear. %%% bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez'okutya. 60P1E003.003 Whose adorning let it not be that outward adorning of plaiting the hair, and of wearing of gold, or of putting on of apparel; %%% Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye; 60P1E003.004 But let it be the hidden man of the heart, in that which is not corruptible, even the ornament of a meek and quiet spirit, which is in the sight of God of great price. %%% naye omuntu ow'omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. 60P1E003.005 For after this manner in the old time the holy women also, who trusted in God, adorned themselves, being in subjection unto their own husbands: %%% Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini: 60P1E003.006 Even as Sara obeyed Abraham, calling him lord: whose daughters ye are, as long as ye do well, and are not afraid with any amazement. %%% nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng'amuyita omwami: nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna. 60P1E003.007 Likewise, ye husbands, dwell with them according to knowledge, giving honour unto the wife, as unto the weaker vessel, and as being heirs together of the grace of life; that your prayers be not hindered. %%% Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa. 60P1E003.008 Finally, be ye all of one mind, having compassion one of another, love as brethren, be pitiful, be courteous: %%% Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagalana ng'ab'oluganda, ab'ekisa, abawombeefu: 60P1E003.009 Not rendering evil for evil, or railing for railing: but contrariwise blessing; knowing that ye are thereunto called, that ye should inherit a blessing. %%% abatawalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa. 60P1E003.010 For he that will love life, and see good days, let him refrain his tongue from evil, and his lips that they speak no guile: %%% Kubanga Ayagala okwegomba obulamu, N'okulaba ennaku ennungi, Aziyizenga olulimi lwe mu bubi, N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa: 60P1E003.011 Let him eschew evil, and do good; let him seek peace, and ensue it. %%% Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi; Anoonyenga emirembe, agigobererenga. 60P1E003.012 For the eyes of the Lord are over the righteous, and his ears are open unto their prayers: but the face of the Lord is against them that do evil. %%% Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe: Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi. 60P1E003.013 And who is he that will harm you, if ye be followers of that which is good? %%% Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi? 60P1E003.014 But and if ye suffer for righteousness' sake, happy are ye: and be not afraid of their terror, neither be troubled; %%% Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa: era temutyanga kutiisa kwabwe, so temweraliikiriranga; 60P1E003.015 But sanctify the Lord God in your hearts: and be ready always to give an answer to every man that asketh you a reason of the hope that is in you with meekness and fear: %%% naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe; nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya: 60P1E003.016 Having a good conscience; that, whereas they speak evil of you, as of evildoers, they may be ashamed that falsely accuse your good conversation in Christ. %%% nga mulina omwoyo omulungi; olw'ebyo bye baboogerako obubi, balyoke bakwatibwenga ensonyi abavuma empisa zammwe ennungi ez'omu Kristo. 60P1E003.017 For it is better, if the will of God be so, that ye suffer for well doing, than for evil doing. %%% Kubanga kye kisinga obulungi, Katonda bw'ayagala mu kwagala kwe, mmwe okubonyaabonyezebwa nga mukola obulungi okusinga nga mukola obubi. 60P1E003.018 For Christ also hath once suffered for sins, the just for the unjust, that he might bring us to God, being put to death in the flesh, but quickened by the Spirit: %%% Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo; 60P1E003.019 By which also he went and preached unto the spirits in prison; %%% era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera, 60P1E003.020 Which sometime were disobedient, when once the longsuffering of God waited in the days of Noah, while the ark was a preparing, wherein few, that is, eight souls were saved by water. %%% edda abataagonda okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyasibibwa, emazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana: 60P1E003.021 The like figure whereunto even baptism doth also now save us (not the putting away of the filth of the flesh, but the answer of a good conscience toward God,) by the resurrection of Jesus Christ: %%% era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo, 60P1E003.022 Who is gone into heaven, and is on the right hand of God; angels and authorities and powers being made subject unto him. %%% ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we. 60P1E004.001 Forasmuch then as Christ hath suffered for us in the flesh, arm yourselves likewise with the same mind: for he that hath suffered in the flesh hath ceased from sin; %%% Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mwambalenga ebyokulwanyisa gwe mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng'amaze okuleka ebibi; 60P1E004.002 That he no longer should live the rest of his time in the flesh to the lusts of men, but to the will of God. %%% mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala. 60P1E004.003 For the time past of our life may suffice us to have wrought the will of the Gentiles, when we walked in lasciviousness, lusts, excess of wine, revellings, banquetings, and abominable idolatries: %%% Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo: 60P1E004.004 Wherein they think it strange that ye run not with them to the same excess of riot, speaking evil of you: %%% ebyo bye bibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, nga babavuma: 60P1E004.005 Who shall give account to him that is ready to judge the quick and the dead. %%% abaliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu. 60P1E004.006 For for this cause was the gospel preached also to them that are dead, that they might be judged according to men in the flesh, but live according to God in the spirit. %%% Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo. 60P1E004.007 But the end of all things is at hand: be ye therefore sober, and watch unto prayer. %%% Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba: 60P1E004.008 And above all things have fervent charity among yourselves: for charity shall cover the multitude of sins. %%% okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi: 60P1E004.009 Use hospitality one to another without grudging. %%% nga musembezaganyanga awatali kwemulugunya: 60P1E004.010 As every man hath received the gift, even so minister the same one to another, as good stewards of the manifold grace of God. %%% nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu; 60P1E004.011 If any man speak, let him speak as the oracles of God; if any man minister, let him do it as of the ability which God giveth: that God in all things may be glorified through Jesus Christ, to whom be praise and dominion for ever and ever. Amen. %%% omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonna Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. 60P1E004.012 Beloved, think it not strange concerning the fiery trial which is to try you, as though some strange thing happened unto you: %%% Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo: 60P1E004.013 But rejoice, inasmuch as ye are partakers of Christ's sufferings; that, when his glory shall be revealed, ye may be glad also with exceeding joy. %%% naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza. 60P1E004.014 If ye be reproached for the name of Christ, happy are ye; for the spirit of glory and of God resteth upon you: on their part he is evil spoken of, but on your part he is glorified. %%% Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe. 60P1E004.015 But let none of you suffer as a murderer, or as a thief, or as an evildoer, or as a busybody in other men's matters. %%% Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne: 60P1E004.016 Yet if any man suffer as a Christian, let him not be ashamed; but let him glorify God on this behalf. %%% naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo. 60P1E004.017 For the time is come that judgment must begin at the house of God: and if it first begin at us, what shall the end be of them that obey not the gospel of God? %%% Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda? 60P1E004.018 And if the righteous scarcely be saved, where shall the ungodly and the sinner appear? %%% Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabika wa? 60P1E004.019 Wherefore let them that suffer according to the will of God commit the keeping of their souls to him in well doing, as unto a faithful Creator. %%% Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi. 60P1E005.001 The elders which are among you I exhort, who am also an elder, and a witness of the sufferings of Christ, and also a partaker of the glory that shall be revealed: %%% Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa: 60P1E005.002 Feed the flock of God which is among you, taking the oversight thereof, not by constraint, but willingly; not for filthy lucre, but of a ready mind; %%% mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo; 60P1E005.003 Neither as being lords over God's heritage, but being ensamples to the flock. %%% so si ng'abeefuula abaami b'ebyo bye mwateresebwa, naye nga mubeeranga byakulabirako eri ekisibo: 60P1E005.004 And when the chief Shepherd shall appear, ye shall receive a crown of glory that fadeth not away. %%% Era Omusumba omukulu bw'alirabisibwa, muliweebwa engule ey'ekitiibwa etewotoka. 60P1E005.005 Likewise, ye younger, submit yourselves unto the elder. Yea, all of you be subject one to another, and be clothed with humility: for God resisteth the proud, and giveth grace to the humble. %%% Bwe mutyo, abavubuka, mugonderenga abakadde. Era mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. 60P1E005.006 Humble yourselves therefore under the mighty hand of God, that he may exalt you in due time: %%% Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng'obudde buuuse; 60P1E005.007 Casting all your care upon him; for he careth for you. %%% nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe. 60P1E005.008 Be sober, be vigilant; because your adversary the devil, as a roaring lion, walketh about, seeking whom he may devour: %%% Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya. 60P1E005.009 Whom resist stedfast in the faith, knowing that the same afflictions are accomplished in your brethren that are in the world. %%% oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng'ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi. 60P1E005.010 But the God of all grace, who hath called us unto his eternal glory by Christ Jesus, after that ye have suffered a while, make you perfect, stablish, strengthen, settle you. %%% Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, alibanyweza, alibawa amaanyi. 60P1E005.011 To him be glory and dominion for ever and ever. Amen. %%% Oyo aweebwenga obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. 60P1E005.012 By Silvanus, a faithful brother unto you, as I suppose, I have written briefly, exhorting, and testifying that this is the true grace of God wherein ye stand. %%% Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey'ebigambo ebitono, nga mbabuulirira, ne mbategeeza ng'ekyo kye kisa eky'amazima ekya Katonda; mukinywererengamu. 60P1E005.013 The church that is at Babylon, elected together with you, saluteth you; and so doth Marcus my son. %%% Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munnammwe abalamusizza; ne Makko mwana wange. 60P1E005.014 Greet ye one another with a kiss of charity. Peace be with you all that are in Christ Jesus. Amen. %%% Mulamusagane n'okunywegera okw'okwagala. Emirembe gibeerenga nammwe mwenna abali mu Kristo. 61P2E001.001 Simon Peter, a servant and an apostle of Jesus Christ, to them that have obtained like precious faith with us through the righteousness of God and our Saviour Jesus Christ: %%% Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafuna okukkiriza okw'omuwendo omungi nga ffe bwe twafuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 61P2E001.002 Grace and peace be multiplied unto you through the knowledge of God, and of Jesus our Lord, %%% ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe; 61P2E001.003 According as his divine power hath given unto us all things that pertain unto life and godliness, through the knowledge of him that hath called us to glory and virtue: %%% kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye; 61P2E001.004 Whereby are given unto us exceeding great and precious promises: that by these ye might be partakers of the divine nature, having escaped the corruption that is in the world through lust. %%% ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba. 61P2E001.005 And beside this, giving all diligence, add to your faith virtue; and to virtue knowledge; %%% Naye era olw'ekyo kyennyini bwe muleeta ku lwammwe okufuba kwonna, ku kukkiriza kwammwe mwongerengako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe okutegeera; 61P2E001.006 And to knowledge temperance; and to temperance patience; and to patience godliness; %%% era ne ku kutegeera kwammwe okwegendereza; era ne ku kwegendereza kwammwe okugumiikiriza; era ne ku kugumiikiriza kwammwe okutya Katonda; 61P2E001.007 And to godliness brotherly kindness; and to brotherly kindness charity. %%% era ne ku kutya Katonda kwammwe okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe okwagala. 61P2E001.008 For if these things be in you, and abound, they make you that ye shall neither be barren nor unfruitful in the knowledge of our Lord Jesus Christ. %%% Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo. 61P2E001.009 But he that lacketh these things is blind, and cannot see afar off, and hath forgotten that he was purged from his old sins. %%% Kubanga ataba n'ebyo ye muzibe w'amaaso awunawuna, bwe yeerabira okunaazibwako ebibi bye eby'edda. 61P2E001.010 Wherefore the rather, brethren, give diligence to make your calling and election sure: for if ye do these things, ye shall never fall: %%% Kale, ab'oluganda, kyemunaavanga mweyongera obweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa: kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n'akatono: 61P2E001.011 For so an entrance shall be ministered unto you abundantly into the everlasting kingdom of our Lord and Saviour Jesus Christ. %%% kubanga bwe kityo tewalibulawo bugagga mu kuyingira kwammwe mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. 61P2E001.012 Wherefore I will not be negligent to put you always in remembrance of these things, though ye know them, and be established in the present truth. %%% Kyennaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina. 61P2E001.013 Yea, I think it meet, as long as I am in this tabernacle, to stir you up by putting you in remembrance; %%% Era ndowooza nga kya nsonga, nga nkyali mu nsiisira eno, okubakubirizanga nga mbajjukiza; 61P2E001.014 Knowing that shortly I must put off this my tabernacle, even as our Lord Jesus Christ hath shewed me. %%% nga mmanyi nga nditera , okwambula amangu ensiisira yange, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza. 61P2E001.015 Moreover I will endeavour that ye may be able after my decease to have these things always in remembrance. %%% Naye era nnaafubanga okubayinzisa buli kaseera nga mmaze okufa okujjukiranga ebyo. 61P2E001.016 For we have not followed cunningly devised fables, when we made known unto you the power and coming of our Lord Jesus Christ, but were eyewitnesses of his majesty. %%% Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe. 61P2E001.017 For he received from God the Father honour and glory, when there came such a voice to him from the excellent glory, This is my beloved Son, in whom I am well pleased. %%% Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo: 61P2E001.018 And this voice which came from heaven we heard, when we were with him in the holy mount. %%% n'eddoboozi eryo ffe ne tuliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu. 61P2E001.019 We have also a more sure word of prophecy; whereunto ye do well that ye take heed, as unto a light that shineth in a dark place, until the day dawn, and the day star arise in your hearts: %%% Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe: 61P2E001.020 Knowing this first, that no prophecy of the scripture is of any private interpretation. %%% nga mumaze okutegeera kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekitegeeza kukoma kw'oyo yekka. 61P2E001.021 For the prophecy came not in old time by the will of man: but holy men of God spake as they were moved by the Holy Ghost. %%% Kubanga siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu. 61P2E002.001 But there were false prophets also among the people, even as there shall be false teachers among you, who privily shall bring in damnable heresies, even denying the Lord that bought them, and bring upon themselves swift destruction. %%% Naye era ne wabaawo ne bannabbi b'obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza b'obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okwangu. 61P2E002.002 And many shall follow their pernicious ways; by reason of whom the way of truth shall be evil spoken of. %%% Era bangi abaligoberera obukaba bwabwe; abalivumisa ekkubo ery'amazima. 61P2E002.003 And through covetousness shall they with feigned words make merchandise of you: whose judgment now of a long time lingereth not, and their damnation slumbereth not. %%% Era olw'okwegomba balibaviisaamu amagoba n'ebigambo ebyagunjibwa: omusango gw'abo okuva edda tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekubongoota. 61P2E002.004 For if God spared not the angels that sinned, but cast them down to hell, and delivered them into chains of darkness, to be reserved unto judgment; %%% Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obunnya obw'ekizikiza, okubakuumira omusango; 61P2E002.005 And spared not the old world, but saved Noah the eighth person, a preacher of righteousness, bringing in the flood upon the world of the ungodly; %%% era n'atasonyiwa nsi ey'edda, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey'abatatya Katonda: 61P2E002.006 And turning the cities of Sodom and Gomorrha into ashes condemned them with an overthrow, making them an ensample unto those that after should live ungodly; %%% era bwe yasirissa ebibuga Sodoma ne Ggomola n'abisalira omusango ng'abizikiriza ng'abifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda; 61P2E002.007 And delivered just Lot, vexed with the filthy conversation of the wicked: %%% era n'alokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeraliikirira nnyo olw'empisa ez'obukaba ez'ababi 61P2E002.008 (For that righteous man dwelling among them, in seeing and hearing, vexed his righteous soul from day to day with their unlawful deeds;) %%% (kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo, olw'okulaba n'olw'okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijjo bulijjo olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu): 61P2E002.009 The Lord knoweth how to deliver the godly out of temptations, and to reserve the unjust unto the day of judgment to be punished: %%% Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw'omusango; 61P2E002.010 But chiefly them that walk after the flesh in the lust of uncleanness, and despise government. Presumptuous are they, selfwilled, they are not afraid to speak evil of dignities. %%% naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebakankana kuvuma ba kitiibwa: 61P2E002.011 Whereas angels, which are greater in power and might, bring not railing accusation against them before the Lord. %%% naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n'obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe. 61P2E002.012 But these, as natural brute beasts, made to be taken and destroyed, speak evil of the things that they understand not; and shall utterly perish in their own corruption; %%% Naye abo, ng'ensolo ezitaliaa magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, mu kuzikirira kwabwe tebalirema kuzikirizibwa, 61P2E002.013 And shall receive the reward of unrighteousness, as they that count it pleasure to riot in the day time. Spots they are and blemishes, sporting themselves with their own deceivings while they feast with you; %%% nga boonoonebwa, ye mpeera ey'okwonoona; abalowooza ebinyumu by'emisana nga ssanyu, mabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez'okwagalana nga balya embaga awamu nammwe: 61P2E002.014 Having eyes full of adultery, and that cannot cease from sin; beguiling unstable souls: an heart they have exercised with covetous practices; cursed children: %%% nga balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab'okukolimirwa; 61P2E002.015 Which have forsaken the right way, and are gone astray, following the way of Balaam the son of Bosor, who loved the wages of unrighteousness; %%% abaleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey'obutali butuukirivu; 61P2E002.016 But was rebuked for his iniquity: the dumb ass speaking with man's voice forbad the madness of the prophet. %%% naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe ye: endogoyi eteyogera bwe yayogera n'eddoboozi ly'omuntu yaziyiza eddalu lya naabbi. 61P2E002.017 These are wells without water, clouds that are carried with a tempest; to whom the mist of darkness is reserved for ever. %%% Abo ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi. 61P2E002.018 For when they speak great swelling words of vanity, they allure through the lusts of the flesh, through much wantonness, those that were clean escaped from them who live in error. %%% Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okubadduka abatambulira mu bukyamu; 61P2E002.019 While they promise them liberty, they themselves are the servants of corruption: for of whom a man is overcome, of the same is he brought in bondage. %%% nga babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga omuntu bw'awangulibwa munne, era abeera muddu we. 61P2E002.020 For if after they have escaped the pollutions of the world through the knowledge of the Lord and Saviour Jesus Christ, they are again entangled therein, and overcome, the latter end is worse with them than the beginning. %%% Kuba oba nga bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw'ensi mu kutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ne beegombeza mu obwo omulundi ogw'okubiri ne bawangulibwa eby'oluvaanyuma byabwe bisinga obubi eby'olubereberye. 61P2E002.021 For it had been better for them not to have known the way of righteousness, than, after they have known it, to turn from the holy commandment delivered unto them. %%% Kubanga kyandibadde kirungi gye bali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, okudda ennyuma okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa. 61P2E002.022 But it is happened unto them according to the true proverb, The dog is turned to his own vomit again; and the sow that was washed to her wallowing in the mire. %%% Kyabatuukirira ng'olugero olw'amazima bwe luli, nti Embwa eddidde ebisesemye byayo, n'embizzi enaazibbwa eddidde okwekulukuuaya mu bitosi. 61P2E003.001 This second epistle, beloved, I now write unto you; in both which I stir up your pure minds by way of remembrance: %%% Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa ey'okubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza amagezi gammwe agataliimu bukuusa nga mbajjukiza; 61P2E003.002 That ye may be mindful of the words which were spoken before by the holy prophets, and of the commandment of us the apostles of the Lord and Saviour: %%% okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi: 61P2E003.003 Knowing this first, that there shall come in the last days scoffers, walking after their own lusts, %%% nga mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo 61P2E003.004 And saying, Where is the promise of his coming? for since the fathers fell asleep, all things continue as they were from the beginning of the creation. %%% ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa. 61P2E003.005 For this they willingly are ignorant of, that by the word of God the heavens were of old, and the earth standing out of the water and in the water: %%% Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw'ekigambo kya Katonda, 61P2E003.006 Whereby the world that then was, being overflowed with water, perished: %%% ensi ey'edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n'ezikirira: 61P2E003.007 But the heavens and the earth, which are now, by the same word are kept in store, reserved unto fire against the day of judgment and perdition of ungodly men. %%% naye eggulu erya kaakano n'ensi olw'ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda. 61P2E003.008 But, beloved, be not ignorant of this one thing, that one day is with the Lord as a thousand years, and a thousand years as one day. %%% Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu. 61P2E003.009 The Lord is not slack concerning his promise, as some men count slackness; but is longsuffering to us-ward, not willing that any should perish, but that all should come to repentance. %%% Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya. 61P2E003.010 But the day of the Lord will come as a thief in the night; in the which the heavens shall pass away with a great noise, and the elements shall melt with fervent heat, the earth also and the works that are therein shall be burned up. %%% Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka. 61P2E003.011 Seeing then that all these things shall be dissolved, what manner of persons ought ye to be in all holy conversation and godliness, %%% Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda, 61P2E003.012 Looking for and hasting unto the coming of the day of God, wherein the heavens being on fire shall be dissolved, and the elements shall melt with fervent heat? %%% nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi? 61P2E003.013 Nevertheless we, according to his promise, look for new heavens and a new earth, wherein dwelleth righteousness. %%% Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula. 61P2E003.014 Wherefore, beloved, seeing that ye look for such things, be diligent that ye may be found of him in peace, without spot, and blameless. %%% Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge. 61P2E003.015 And account that the longsuffering of our Lord is salvation; even as our beloved brother Paul also according to the wisdom given unto him hath written unto you; %%% Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira; 61P2E003.016 As also in all his epistles, speaking in them of these things; in which are some things hard to be understood, which they that are unlearned and unstable wrest, as they do also the other scriptures, unto their own destruction. %%% era nga mu bbaluwa ze zonna, ng'ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe bo. 61P2E003.017 Ye therefore, beloved, seeing ye know these things before, beware lest ye also, being led away with the error of the wicked, fall from your own stedfastness. %%% Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi. 61P2E003.018 But grow in grace, and in the knowledge of our Lord and Saviour Jesus Christ. To him be glory both now and for ever. Amen. %%% Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina. 62J1O001.001 That which was from the beginning, which we have heard, which we have seen with our eyes, which we have looked upon, and our hands have handled, of the Word of life; %%% Ekyabaawo okuva ku lubereberye; kye twawulira, kye twalaba n'amaaso gaffe, kye twatunuulira, era engalo zaffe kye zaakwatako, ebya Kigambo eky'obulamu 62J1O001.002 (For the life was manifested, and we have seen it, and bear witness, and shew unto you that eternal life, which was with the Father, and was manifested unto us;) %%% (n'obulamu bwalabisibwa, ne tulaba, era tutegeeza, era tububuulira mmwe obulamu obwo obutaggwaawo, obwabaawo awali Kitaffe ne bulabisibwa gye tuli); 62J1O001.003 That which we have seen and heard declare we unto you, that ye also may have fellowship with us: and truly our fellowship is with the Father, and with his Son Jesus Christ. %%% kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo; 62J1O001.004 And these things write we unto you, that your joy may be full. %%% n'ebyo tubiwandiika ffe, essanyu lyaffe liryoke lituukirire. 62J1O001.005 This then is the message which we have heard of him, and declare unto you, that God is light, and in him is no darkness at all. %%% Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye ekizikiza temuli n'akatono. 62J1O001.006 If we say that we have fellowship with him, and walk in darkness, we lie, and do not the truth: %%% Bwe twogera nga tussa kimu naye ne tutambuliranga mu kizikiza, tulimba ne tutakola mazima; 62J1O001.007 But if we walk in the light, as he is in the light, we have fellowship one with another, and the blood of Jesus Christ his Son cleanseth us from all sin. %%% naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana; tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna. 62J1O001.008 If we say that we have no sin, we deceive ourselves, and the truth is not in us. %%% Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n'amazima tegali mu ffe. 62J1O001.009 If we confess our sins, he is faithful and just to forgive us our sins, and to cleanse us from all unrighteousness. %%% Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. 62J1O001.010 If we say that we have not sinned, we make him a liar, and his word is not in us. %%% Bwe twogera nga tetwonoonanga, tumufuula mulimba, so nga n'ekigambo kye tekiri mu ffe. 62J1O002.001 My little children, these things write I unto you, that ye sin not. And if any man sin, we have an advocate with the Father, Jesus Christ the righteous: %%% Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu: 62J1O002.002 And he is the propitiation for our sins: and not for ours only, but also for the sins of the whole world. %%% n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi zonna. 62J1O002.003 And hereby we do know that we know him, if we keep his commandments. %%% Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye. 62J1O002.004 He that saith, I know him, and keepeth not his commandments, is a liar, and the truth is not in him. %%% Ayogera nti Mmutegedde, n'atakwata biragiro bye, ye mulimba, n'amazima tegali mu oyo; 62J1O002.005 But whoso keepeth his word, in him verily is the love of God perfected: hereby know we that we are in him. %%% naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye: 62J1O002.006 He that saith he abideth in him ought himself also so to walk, even as he walked. %%% ayogera ng'abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula. 62J1O002.007 Brethren, I write no new commandment unto you, but an old commandment which ye had from the beginning. The old commandment is the word which ye have heard from the beginning. %%% Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro eky'edda, kye mwalina okuva ku lubereberye; ekiragiro ekyo eky'edda kye kigambo kye mwawulira. 62J1O002.008 Again, a new commandment I write unto you, which thing is true in him and in you: because the darkness is past, and the true light now shineth. %%% Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka. 62J1O002.009 He that saith he is in the light, and hateth his brother, is in darkness even until now. %%% Ayogera ng'ali mu musana n'akyawa muganda we, ng'akyali mu kizikiza ne kaakano. 62J1O002.010 He that loveth his brother abideth in the light, and there is none occasion of stumbling in him. %%% Ayagala muganda we abeera mu musana, era tewali kimwesittaza. 62J1O002.011 But he that hateth his brother is in darkness, and walketh in darkness, and knoweth not whither he goeth, because that darkness hath blinded his eyes. %%% Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso. 62J1O002.012 I write unto you, little children, because your sins are forgiven you for his name's sake. %%% Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye. 62J1O002.013 I write unto you, fathers, because ye have known him that is from the beginning. I write unto you, young men, because ye have overcome the wicked one. I write unto you, little children, because ye have known the Father. %%% Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato, kubanga mutegedde Kitaffe. 62J1O002.014 I have written unto you, fathers, because ye have known him that is from the beginning. I have written unto you, young men, because ye are strong, and the word of God abideth in you, and ye have overcome the wicked one. %%% Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi. 62J1O002.015 Love not the world, neither the things that are in the world. If any man love the world, the love of the Father is not in him. %%% Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw'ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. 62J1O002.016 For all that is in the world, the lust of the flesh, and the lust of the eyes, and the pride of life, is not of the Father, but is of the world. %%% Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. 62J1O002.017 And the world passeth away, and the lust thereof: but he that doeth the will of God abideth for ever. %%% Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo. 62J1O002.018 Little children, it is the last time: and as ye have heard that antichrist shall come, even now are there many antichrists; whereby we know that it is the last time. %%% Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero. 62J1O002.019 They went out from us, but they were not of us; for if they had been of us, they would no doubt have continued with us: but they went out, that they might be made manifest that they were not all of us. %%% Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe. 62J1O002.020 But ye have an unction from the Holy One, and ye know all things. %%% Nammwe mufukibwako amafuta eri Omutuknvu, era mumanyi byonna. 62J1O002.021 I have not written unto you because ye know not the truth, but because ye know it, and that no lie is of the truth. %%% Sibawandiikidde kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era kubanga tewali bulimba obuva mu mazima. 62J1O002.022 Who is a liar but he that denieth that Jesus is the Christ? He is antichrist, that denieth the Father and the Son. %%% Omulimba ye ani wabula oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana. 62J1O002.023 Whosoever denieth the Son, the same hath not the Father: he that acknowledgeth the Son hath the Father also. %%% Buli muntu yenna agaana Omwana, ne Kitaffe nga tali naye; ayatula Omwana, ne Kitaffe ali naye. 62J1O002.024 Let that therefore abide in you, which ye have heard from the beginning. If that which ye have heard from the beginning shall remain in you, ye also shall continue in the Son, and in the Father. %%% Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe. 62J1O002.025 And this is the promise that he hath promised us, even eternal life. %%% Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza, obulamu obutaggwaawo. 62J1O002.026 These things have I written unto you concerning them that seduce you. %%% Ebyo mbawandiikidde olw'ebigambo by'abo abakyamya. 62J1O002.027 But the anointing which ye have received of him abideth in you, and ye need not that any man teach you: but as the same anointing teacheth you of all things, and is truth, and is no lie, and even as it hath taught you, ye shall abide in him. %%% Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa ye kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye. 62J1O002.028 And now, little children, abide in him; that, when he shall appear, we may have confidence, and not be ashamed before him at his coming. %%% Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe. 62J1O002.029 If ye know that he is righteous, ye know that every one that doeth righteousness is born of him. %%% Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye. 62J1O003.001 Behold, what manner of love the Father hath bestowed upon us, that we should be called the sons of God: therefore the world knoweth us not, because it knew him not. %%% Mulabe okwagala bwe kuli okunene Kitaffe kwe yatuwa, ffe okuyitibwanga abaana ba Katonda; era bwe tuli. Ensi kyeva erema okututegeera, kubanga teyamutegeera ye. 62J1O003.002 Beloved, now are we the sons of God, and it doth not yet appear what we shall be: but we know that, when he shall appear, we shall be like him; for we shall see him as he is. %%% Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw'alirabisibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw'ali. 62J1O003.003 And every man that hath this hope in him purifieth himself, even as he is pure. %%% Era buli muntu yenna alina essuubi eryo mu ye yeetukuza ng'oyo bw'ali omutukuvu. 62J1O003.004 Whosoever committeth sin transgresseth also the law: for sin is the transgression of the law. %%% Buli muntu yenna akola ekibi, akola n'obujeemu; era ekibi bwe bujeemu. 62J1O003.005 And ye know that he was manifested to take away our sins; and in him is no sin. %%% Era mumanyi ng'oyo yalabisibwa era aggyewo ebibi; ne mu ye temuli kibi. 62J1O003.006 Whosoever abideth in him sinneth not: whosoever sinneth hath not seen him, neither known him. %%% Buli muntu yenna abeera mu ye takola kibi: buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so tamutegeera. 62J1O003.007 Little children, let no man deceive you: he that doeth righteousness is righteous, even as he is righteous. %%% Abaana abato, omuntu yenna tabakyamyanga; akola obutuukirivu ye mutuukirivu, nga ye bw'ali omutuukirivu; 62J1O003.008 He that committeth sin is of the devil; for the devil sinneth from the beginning. For this purpose the Son of God was manifested, that he might destroy the works of the devil. %%% akola ekibi wa Setaani; kubanga okuva ku lubereberye Setaani akola ebibi. Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani. 62J1O003.009 Whosoever is born of God doth not commit sin; for his seed remaineth in him: and he cannot sin, because he is born of God. %%% Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. 62J1O003.010 In this the children of God are manifest, and the children of the devil: whosoever doeth not righteousness is not of God, neither he that loveth not his brother. %%% Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we. 62J1O003.011 For this is the message that ye heard from the beginning, that we should love one another. %%% Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga 62J1O003.012 Not as Cain, who was of that wicked one, and slew his brother. And wherefore slew he him? Because his own works were evil, and his brother's righteous. %%% si nga Kayini bwe yali ow'omubi n'atta muganda we. Era yamuttira ki? kubanga ebikolwa bye byali bibi n'ebya muganda we bituukirivu. 62J1O003.013 Marvel not, my brethren, if the world hate you. %%% Temwewuunyanga, ab'oluganda, ensi bw'ebakyawanga. 62J1O003.014 We know that we have passed from death unto life, because we love the brethren. He that loveth not his brother abideth in death. %%% Ffe tumanyi nga twava mu kufa ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala ab'oluganda. Atayagala abeera mu kufa. 62J1O003.015 Whosoever hateth his brother is a murderer: and ye know that no murderer hath eternal life abiding in him. %%% Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi; era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye. 62J1O003.016 Hereby perceive we the love of God, because he laid down his life for us: and we ought to lay down our lives for the brethren. %%% Ku kino kwe tutegeerera okwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe: naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw'ab'oluganda. 62J1O003.017 But whoso hath this world's good, and seeth his brother have need, and shutteth up his bowels of compassion from him, how dwelleth the love of God in him? %%% Naye buli alina ebintu eby'omu nsi, n'atunuulira muganda we nga yeetaaga, n'amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye? 62J1O003.018 My little children, let us not love in word, neither in tongue; but in deed and in truth. %%% Abaana abato, tuleme okwagalanga mu kigambo ne mu lulimi, wabula mu kikolwa ne mu mazima. 62J1O003.019 And hereby we know that we are of the truth, and shall assure our hearts before him. %%% Ku kino kwe tunaategeereranga nga tuli ba mazima ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge, 62J1O003.020 For if our heart condemn us, God is greater than our heart, and knoweth all things. %%% mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna. 62J1O003.021 Beloved, if our heart condemn us not, then have we confidence toward God. %%% Abaagalwa, omutima bwe gutatusalira kutusinga, tuba n'obugumu eri Katonda; 62J1O003.022 And whatsoever we ask, we receive of him, because we keep his commandments, and do those things that are pleasing in his sight. %%% era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge. 62J1O003.023 And this is his commandment, That we should believe on the name of his Son Jesus Christ, and love one another, as he gave us commandment. %%% Na kino kye kiragiro kye, tukkirize erinnya ly'Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga, nga bwe yatuwa ekiragiro. 62J1O003.024 And he that keepeth his commandments dwelleth in him, and he in him. And hereby we know that he abideth in us, by the Spirit which he hath given us. %%% Era akwata ebiragiro bye abeera mu ye, naye mu ye. Era ku kino kwe tutegeerera ng'abeera mu ffe, olw'Omwoyo gwe yatuwa. 62J1O004.001 Beloved, believe not every spirit, but try the spirits whether they are of God: because many false prophets are gone out into the world. %%% Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab'obulimba bangi abafuluma mu nsi. 62J1O004.002 Hereby know ye the Spirit of God: Every spirit that confesseth that Jesus Christ is come in the flesh is of God: %%% Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nga Yesu Kristo yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda: 62J1O004.003 And every spirit that confesseth not that Jesus Christ is come in the flesh is not of God: and this is that spirit of antichrist, whereof ye have heard that it should come; and even now already is it in the world. %%% na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: era ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi. 62J1O004.004 Ye are of God, little children, and have overcome them: because greater is he that is in you, than he that is in the world. %%% Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula: kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi. 62J1O004.005 They are of the world: therefore speak they of the world, and the world heareth them. %%% Abo ba nsi: kyebava boogera eby'ensi, ensi n'ebawulira. 62J1O004.006 We are of God: he that knoweth God heareth us; he that is not of God heareth not us. Hereby know we the spirit of truth, and the spirit of error. %%% Ffe tuli ba Katonda: ategeera Katonda atuwulira ffe; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw’amazima n'omwoyo ogw'Obukyamu. 62J1O004.007 Beloved, let us love one another: for love is of God; and every one that loveth is born of God, and knoweth God. %%% Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda. 62J1O004.008 He that loveth not knoweth not God; for God is love. %%% Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala. 62J1O004.009 In this was manifested the love of God toward us, because that God sent his only begotten Son into the world, that we might live through him. %%% Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw'oyo. 62J1O004.010 Herein is love, not that we loved God, but that he loved us, and sent his Son to be the propitiation for our sins. %%% Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe. 62J1O004.011 Beloved, if God so loved us, we ought also to love one another. %%% Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw'atyo, naffe kitugwanira okwagalananga. 62J1O004.012 No man hath seen God at any time. If we love one another, God dwelleth in us, and his love is perfected in us. %%% Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna: bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe: 62J1O004.013 Hereby know we that we dwell in him, and he in us, because he hath given us of his Spirit. %%% ku kino kwe tutegeerera nga tubeera mu ye, naye mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo gwe. 62J1O004.014 And we have seen and do testify that the Father sent the Son to be the Saviour of the world. %%% Naffe twalaba era tutegeeza nga Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w'ensi. 62J1O004.015 Whosoever shall confess that Jesus is the Son of God, God dwelleth in him, and he in God. %%% Buli ayatula nga Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye mu Katonda. 62J1O004.016 And we have known and believed the love that God hath to us. God is love; and he that dwelleth in love dwelleth in God, and God in him. %%% Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw'alina gye tuli. Katonda kwagala; n'oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 62J1O004.017 Herein is our love made perfect, that we may have boldness in the day of judgment: because as he is, so are we in this world. %%% Mu ekyo okwagala mwe kutuukirizibwa gye tuli, tubeere n'obugumu ku lunaku olw'omusango; kuba ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno. 62J1O004.018 There is no fear in love; but perfect love casteth out fear: because fear hath torment. He that feareth is not made perfect in love. %%% Temuli kutya mu kwagala, naye okwagala okutuukirivu kugobera ebweru okutya, kubanga okutya kulimu okubonerezebwa; n'oyo atya tannatuukirizibwa mu kwagala. 62J1O004.019 We love him, because he first loved us. %%% Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe. 62J1O004.020 If a man say, I love God, and hateth his brother, he is a liar: for he that loveth not his brother whom he hath seen, how can he love God whom he hath not seen? %%% Omuntu bw'ayogera nti Njagala Katonda, n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza kumwagala. 62J1O004.021 And this commandment have we from him, That he who loveth God love his brother also. %%% Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we. 62J1O005.001 Whosoever believeth that Jesus is the Christ is born of God: and every one that loveth him that begat loveth him also that is begotten of him. %%% Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab'obulimba bangi abafuluma mu nsi. 62J1O005.002 By this we know that we love the children of God, when we love God, and keep his commandments. %%% Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nga Yesu Kristo yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda: 62J1O005.003 For this is the love of God, that we keep his commandments: and his commandments are not grievous. %%% na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: era ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi. 62J1O005.004 For whatsoever is born of God overcometh the world: and this is the victory that overcometh the world, even our faith. %%% Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula: kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi. 62J1O005.005 Who is he that overcometh the world, but he that believeth that Jesus is the Son of God? %%% Abo ba nsi: kyebava boogera eby'ensi, ensi n'ebawulira. 62J1O005.006 This is he that came by water and blood, even Jesus Christ; not by water only, but by water and blood. And it is the Spirit that beareth witness, because the Spirit is truth. %%% Ffe tuli ba Katonda: ategeera Katonda atuwulira ffe; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw’amazima n'omwoyo ogw'Obukyamu. 62J1O005.007 For there are three that bear record in heaven, the Father, the Word, and the Holy Ghost: and these three are one. %%% Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda. 62J1O005.008 And there are three that bear witness in earth, the Spirit, and the water, and the blood: and these three agree in one. %%% Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala. 62J1O005.009 If we receive the witness of men, the witness of God is greater: for this is the witness of God which he hath testified of his Son. %%% Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw'oyo. 62J1O005.010 He that believeth on the Son of God hath the witness in himself: he that believeth not God hath made him a liar; because he believeth not the record that God gave of his Son. %%% Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe. 62J1O005.011 And this is the record, that God hath given to us eternal life, and this life is in his Son. %%% Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw'atyo, naffe kitugwanira okwagalananga. 62J1O005.012 He that hath the Son hath life; and he that hath not the Son of God hath not life. %%% Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna: bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe: 62J1O005.013 These things have I written unto you that believe on the name of the Son of God; that ye may know that ye have eternal life, and that ye may believe on the name of the Son of God. %%% ku kino kwe tutegeerera nga tubeera mu ye, naye mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo gwe. 62J1O005.014 And this is the confidence that we have in him, that, if we ask any thing according to his will, he heareth us: %%% Naffe twalaba era tutegeeza nga Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w'ensi. 62J1O005.015 And if we know that he hear us, whatsoever we ask, we know that we have the petitions that we desired of him. %%% Buli ayatula nga Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye mu Katonda. 62J1O005.016 If any man see his brother sin a sin which is not unto death, he shall ask, and he shall give him life for them that sin not unto death. There is a sin unto death: I do not say that he shall pray for it. %%% Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw'alina gye tuli. Katonda kwagala; n'oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 62J1O005.017 All unrighteousness is sin: and there is a sin not unto death. %%% Mu ekyo okwagala mwe kutuukirizibwa gye tuli, tubeere n'obugumu ku lunaku olw'omusango; kuba ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno. 62J1O005.018 We know that whosoever is born of God sinneth not; but he that is begotten of God keepeth himself, and that wicked one toucheth him not. %%% Temuli kutya mu kwagala, naye okwagala okutuukirivu kugobera ebweru okutya, kubanga okutya kulimu okubonerezebwa; n'oyo atya tannatuukirizibwa mu kwagala. 62J1O005.019 And we know that we are of God, and the whole world lieth in wickedness. %%% Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe. 62J1O005.020 And we know that the Son of God is come, and hath given us an understanding, that we may know him that is true, and we are in him that is true, even in his Son Jesus Christ. This is the true God, and eternal life. %%% Omuntu bw'ayogera nti Njagala Katonda, n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza kumwagala. 62J1O005.021 Little children, keep yourselves from idols. Amen. %%% Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we. 63J2O001.001 The elder unto the elect lady and her children, whom I love in the truth; and not I only, but also all they that have known the truth; %%% Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n'abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abategeera amazima; 63J2O001.002 For the truth's sake, which dwelleth in us, and shall be with us for ever. %%% olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe: 63J2O001.003 Grace be with you, mercy, and peace, from God the Father, and from the Lord Jesus Christ, the Son of the Father, in truth and love. %%% ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala. 63J2O001.004 I rejoiced greatly that I found of thy children walking in truth, as we have received a commandment from the Father. %%% Nsanyuse nnyo kubanga nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twaweebwa Kitaffe ekiragiro. 63J2O001.005 And now I beseech thee, lady, not as though I wrote a new commandment unto thee, but that which we had from the beginning, that we love one another. %%% Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka. 63J2O001.006 And this is love, that we walk after his commandments. This is the commandment, That, as ye have heard from the beginning, ye should walk in it. %%% Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu. 63J2O001.007 For many deceivers are entered into the world, who confess not that Jesus Christ is come in the flesh. This is a deceiver and an antichrist. %%% Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo. 63J2O001.008 Look to yourselves, that we lose not those things which we have wrought, but that we receive a full reward. %%% Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba. 63J2O001.009 Whosoever transgresseth, and abideth not in the doctrine of Christ, hath not God. He that abideth in the doctrine of Christ, he hath both the Father and the Son. %%% Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana. 63J2O001.010 If there come any unto you, and bring not this doctrine, receive him not into your house, neither bid him God speed: %%% Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga: 63J2O001.011 For he that biddeth him God speed is partaker of his evil deeds. %%% kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi. 63J2O001.012 Having many things to write unto you, I would not write with paper and ink: but I trust to come unto you, and speak face to face, that our joy may be full. %%% Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino: naye nsuubira okujja gye muli, n'okwogera akamwa n'akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 63J2O001.013 The children of thy elect sister greet thee. Amen. %%% Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza. 64J3O001.001 The elder unto the wellbeloved Gaius, whom I love in the truth. %%% Nze omukadde mpadiikira Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima. 64J3O001.002 Beloved, I wish above all things that thou mayest prosper and be in health, even as thy soul prospereth. %%% Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'omwoyo gwo bwe gubeera obulungi. 64J3O001.003 For I rejoiced greatly, when the brethren came and testified of the truth that is in thee, even as thou walkest in the truth. %%% Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima. 64J3O001.004 I have no greater joy than to hear that my children walk in truth. %%% Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima. 64J3O001.005 Beloved, thou doest faithfully whatsoever thou doest to the brethren, and to strangers; %%% Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda era abagenyi; 64J3O001.006 Which have borne witness of thy charity before the church: whom if thou bring forward on their journey after a godly sort, thou shalt do well: %%% abaategeeza okwagala kwo mu maaso g'ekkanisa; abo bw'onoobatambuzanga nga Katonda bw'asaanira, onookolanga bulungi: 64J3O001.007 Because that for his name's sake they went forth, taking nothing of the Gentiles. %%% kubanga baavaayo olw'Erinnya nga tebaweereddwa kintu ba mawanga. 64J3O001.008 We therefore ought to receive such, that we might be fellowhelpers to the truth. %%% Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima. 64J3O001.009 I wrote unto the church: but Diotrephes, who loveth to have the preeminence among them, receiveth us not. %%% Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza. 64J3O001.010 Wherefore, if I come, I will remember his deeds which he doeth, prating against us with malicious words: and not content therewith, neither doth he himself receive the brethren, and forbiddeth them that would, and casteth them out of the church. %%% Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu: so ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba mu kkanisa. 64J3O001.011 Beloved, follow not that which is evil, but that which is good. He that doeth good is of God: but he that doeth evil hath not seen God. %%% Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda: akola obubi nga talabanga Katonda. 64J3O001.012 Demetrius hath good report of all men, and of the truth itself: yea, and we also bear record; and ye know that our record is true. %%% Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini: era naffe tutegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima. 64J3O001.013 I had many things to write, but I will not with ink and pen write unto thee: %%% Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu: 64J3O001.014 But I trust I shall shortly see thee, and we shall speak face to face. Peace be to thee. Our friends salute thee. Greet the friends by name. %%% naye nsuubira okukulaba amangu, tulyogera akamwa n'akamwa. Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omukwano bakulamusizza. Lamusa ab'omukwano ng'amannya gaabwe bwe gali. 65JDE001.001 Jude, the servant of Jesus Christ, and brother of James, to them that are sanctified by God the Father, and preserved in Jesus Christ, and called: %%% Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, eri abo abayitibwa, abaagalwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo: 65JDE001.002 Mercy unto you, and peace, and love, be multiplied. %%% okusaasira n'emirembe n'okwagala byongerwengako gye muli. 65JDE001.003 Beloved, when I gave all diligence to write unto you of the common salvation, it was needful for me to write unto you, and exhort you that ye should earnestly contend for the faith which was once delivered unto the saints. %%% Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaffe fenna, nnawalirizibwa okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. 65JDE001.004 For there are certain men crept in unawares, who were before of old ordained to this condemnation, ungodly men, turning the grace of our God into lasciviousness, and denying the only Lord God, and our Lord Jesus Christ. %%% Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe okuba obukaba, ne beegaana Yesu Kristo, ye Mwami ye Mukama waffe omu yekka. 65JDE001.005 I will therefore put you in remembrance, though ye once knew this, how that the Lord, having saved the people out of the land of Egypt, afterward destroyed them that believed not. %%% Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga byonna mwabimanya omulundi gumu, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza. 65JDE001.006 And the angels which kept not their first estate, but left their own habitation, he hath reserved in everlasting chains under darkness unto the judgment of the great day. %%% Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe bo bennyini, abakuumira mu njegere ez'ennaku zonna wansi w'ekizikiza olw'omusango ogw'oku lunaku olukulu. 65JDE001.007 Even as Sodom and Gomorrha, and the cities about them in like manner, giving themselves over to fornication, and going after strange flesh, are set forth for an example, suffering the vengeance of eternal fire. %%% Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikyama okugobereranga omubiri omulala, byateekebwawo okuba ekyokulabirako, nga bibonerezebwa n'omusango ogw'omuliro ogutaggwaawo. 65JDE001.008 Likewise also these filthy dreamers defile the flesh, despise dominion, and speak evil of dignities. %%% Naye era benkana nabo mu kulootaloota kwabwe nga basiiga omubiri empitambi era bagaana obukulu, era bavuma ab'ekitiibwa. 65JDE001.009 Yet Michael the archangel, when contending with the devil he disputed about the body of Moses, durst not bring against him a railing accusation, but said, The Lord rebuke thee. %%% Naye Mikaeri, malayika omukulu, bwe yayomba ne Setaani n'ayogera naye olw'omubiri gwa Musa, teyayaŋŋanga kumuleetako musango gwa kuvuma, naye yagamba nti Mukama akunenye. 65JDE001.010 But these speak evil of those things which they know not: but what they know naturally, as brute beasts, in those things they corrupt themselves. %%% Naye abo bye batamanya byonna babivuma: bye bamanya mu buzaaliranwa ng'ensolo ezitalina magezi mu ebyo bazikirira. 65JDE001.011 Woe unto them! for they have gone in the way of Cain, and ran greedily after the error of Balaam for reward, and perished in the gainsaying of Core. %%% Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, ne baddukanira mu kukyama kwa Balamu olw'empeera, ne babuulira mu kuwakana kwa Koola. 65JDE001.012 These are spots in your feasts of charity, when they feast with you, feeding themselves without fear: clouds they are without water, carried about of winds; trees whose fruit withereth, without fruit, twice dead, plucked up by the roots; %%% Bano ge mayinja agatalabika mu mbaga zammwe ez'okwagalana bwe balya nammwe, abasumba abeerunda bokka awatali kutya; ebire ebitaliimu mazzi nga bitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa awabiri, egyakuulibwa n'emmizi; 65JDE001.013 Raging waves of the sea, foaming out their own shame; wandering stars, to whom is reserved the blackness of darkness for ever. %%% amayengo ag'omu nnyanja ageefuukuula, agabimba ejjovu ze nsonyi zaabwe bo; emmunyeenye ezikyama eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo emirembe n'emirembe. 65JDE001.014 And Enoch also, the seventh from Adam, prophesied of these, saying, Behold, the Lord cometh with ten thousands of his saints, %%% Era abo yabalagulako Enoki, ow'omusanvu okuva ku Adamu, ng'ayogera nti Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakumi, 65JDE001.015 To execute judgment upon all, and to convince all that are ungodly among them of all their ungodly deeds which they have ungodly committed, and of all their hard speeches which ungodly sinners have spoken against him. %%% okuleeta omusango ku bonna, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko. 65JDE001.016 These are murmurers, complainers, walking after their own lusts; and their mouth speaketh great swelling words, having men's persons in admiration because of advantage. %%% Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli (n'akamwa kaabwe koogera ebigambo ebiyinga okukulumbala), nga bassaamu abantu ekitiibwa olw'amagoba. 65JDE001.017 But, beloved, remember ye the words which were spoken before of the apostles of our Lord Jesus Christ; %%% Naye mmwe, abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo; 65JDE001.018 How that they told you there should be mockers in the last time, who should walk after their own ungodly lusts. %%% bwe baabagamba nti Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abasekerezi abatambula ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli okw'obutatya Katonda. 65JDE001.019 These be they who separate themselves, sensual, having not the Spirit. %%% Abo be baleeta okwawula, ab'omubiri, abatalina Mwoyo. 65JDE001.020 But ye, beloved, building up yourselves on your most holy faith, praying in the Holy Ghost, %%% Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu, 65JDE001.021 Keep yourselves in the love of God, looking for the mercy of our Lord Jesus Christ unto eternal life. %%% mwekuumenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw'obulamu obutaggwaawo. 65JDE001.022 And of some have compassion, making a difference: %%% Era abalala mubasaasirenga ababuusabuusa; 65JDE001.023 And others save with fear, pulling them out of the fire; hating even the garment spotted by the flesh. %%% era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala. 65JDE001.024 Now unto him that is able to keep you from falling, and to present you faultless before the presence of his glory with exceeding joy, %%% Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza, 65JDE001.025 To the only wise God our Saviour, be glory and majesty, dominion and power, both now and ever. Amen. %%% Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, edda n'edda ng'emirembe n'emirembe teginnabaawo, kaakano era n'emirembe egitaliggwaawo. Amiina. 66REV001.001 The Revelation of Jesus Christ, which God gave unto him, to shew unto his servants things which must shortly come to pass; and he sent and signified it by his angel unto his servant John: %%% Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu: n'abuulirira mu malayika we ng'amutuma eri omuddu we Yokaana, 66REV001.002 Who bare record of the word of God, and of the testimony of Jesus Christ, and of all things that he saw. %%% eyategeeza ekigambo kya Katonda n'okutegeeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba. 66REV001.003 Blessed is he that readeth, and they that hear the words of this prophecy, and keep those things which are written therein: for the time is at hand. %%% Alina omukisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunnabbi buno, era n'abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi. 66REV001.004 John to the seven churches which are in Asia: Grace be unto you, and peace, from him which is, and which was, and which is to come; and from the seven Spirits which are before his throne; %%% Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye; 66REV001.005 And from Jesus Christ, who is the faithful witness, and the first begotten of the dead, and the prince of the kings of the earth. Unto him that loved us, and washed us from our sins in his own blood, %%% era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe; 66REV001.006 And hath made us kings and priests unto God and his Father; to him be glory and dominion for ever and ever. Amen. %%% n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n'obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina. 66REV001.007 Behold, he cometh with clouds; and every eye shall see him, and they also which pierced him: and all kindreds of the earth shall wail because of him. Even so, Amen. %%% Laba, ajja n'ebire era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina. 66REV001.008 I am Alpha and Omega, the beginning and the ending, saith the Lord, which is, and which was, and which is to come, the Almighty. %%% Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna. 66REV001.009 I John, who also am your brother, and companion in tribulation, and in the kingdom and patience of Jesus Christ, was in the isle that is called Patmos, for the word of God, and for the testimony of Jesus Christ. %%% Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okutegeeza kwa Yesu. 66REV001.010 I was in the Spirit on the Lord's day, and heard behind me a great voice, as of a trumpet, %%% Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe, 66REV001.011 Saying, I am Alpha and Omega, the first and the last: and, What thou seest, write in a book, and send it unto the seven churches which are in Asia; unto Ephesus, and unto Smyrna, and unto Pergamos, and unto Thyatira, and unto Sardis, and unto Philadelphia, and unto Laodicea. %%% nga koogera nti Nze Alufa ne Omega, era Ky'olaba, wandiika mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu; eri Efeso, n'eri Sumuna, n'eri Perugamo, n'eri Suwatira, n'eri Saadi, n'eri Firaderufiya, n'eri Lawodikiya. 66REV001.012 And I turned to see the voice that spake with me. And being turned, I saw seven golden candlesticks; %%% Ne nkyuka okulaba eddoboozi eryayogera nange. Bwe nnakyuka, ne ndaba ettabaaza musanvu eza zaabu; 66REV001.013 And in the midst of the seven candlesticks one like unto the Son of man, clothed with a garment down to the foot, and girt about the paps with a golden girdle. %%% ne wakati w'ettabaaza ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu. 66REV001.014 His head and his hairs were white like wool, as white as snow; and his eyes were as a flame of fire; %%% N'omutwe gwe n'enviiri ze nga zitukula ng'ebyoya by'endiga ebitukula ng'omuzira; n'amaaso ge ng'ennimi z'omuliro; 66REV001.015 And his feet like unto fine brass, as if they burned in a furnace; and his voice as the sound of many waters. %%% n'ebigere bye nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ng'ekirongoosebbwa mu muliro; n'eddoboozi lye nga liri ng'eddoboozi ly'amazzi amangi. 66REV001.016 And he had in his right hand seven stars: and out of his mouth went a sharp twoedged sword: and his countenance was as the sun shineth in his strength. %%% Era ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu: ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri: n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo. 66REV001.017 And when I saw him, I fell at his feet as dead. And he laid his right hand upon me, saying unto me, Fear not; I am the first and the last: %%% Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere bye ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti Totya; nze w'olubereberye era ow'enkomerero, 66REV001.018 I am he that liveth, and was dead; and, behold, I am alive for evermore, Amen; and have the keys of hell and of death. %%% era Omulamu; era nnali nfudde, era, laba, ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina ebisumuluzo eby'okufa n'eby'Emagombe. 66REV001.019 Write the things which thou hast seen, and the things which are, and the things which shall be hereafter; %%% Kale wandiika by'olabye, n'ebiriwo, n'ebigenda okubaawo oluvannyuma lw'ebyo; 66REV001.020 The mystery of the seven stars which thou sawest in my right hand, and the seven golden candlesticks. The seven stars are the angels of the seven churches: and the seven candlesticks which thou sawest are the seven churches. %%% ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ettabaaza omusanvu eza zaabu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu: n'ettabaaza omusanvu ze kkanisa omusanvu. 66REV002.001 Unto the angel of the church of Ephesus write; These things saith he that holdeth the seven stars in his right hand, who walketh in the midst of the seven golden candlesticks; %%% Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, nti 66REV002.002 I know thy works, and thy labour, and thy patience, and how thou canst not bear them which are evil: and thou hast tried them which say they are apostles, and are not, and hast found them liars: %%% Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba; 66REV002.003 And hast borne, and hast patience, and for my name's sake hast laboured, and hast not fainted. %%% era olina okugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, so tewakoowa. 66REV002.004 Nevertheless I have somewhat against thee, because thou hast left thy first love. %%% Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye. 66REV002.005 Remember therefore from whence thou art fallen, and repent, and do the first works; or else I will come unto thee quickly, and will remove thy candlestick out of his place, except thou repent. %%% Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya. 66REV002.006 But this thou hast, that thou hatest the deeds of the Nicolaitanes, which I also hate. %%% Naye kino ky'olina kubanga okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa. 66REV002.007 He that hath an ear, let him hear what the Spirit saith unto the churches; To him that overcometh will I give to eat of the tree of life, which is in the midst of the paradise of God. %%% Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda. 66REV002.008 And unto the angel of the church in Smyrna write; These things saith the first and the last, which was dead, and is alive; %%% Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Samuna wandiika nti Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu nti 66REV002.009 I know thy works, and tribulation, and poverty, (but thou art rich) and I know the blasphemy of them which say they are Jews, and are not, but are the synagogue of Satan. %%% Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani. 66REV002.010 Fear none of those things which thou shalt suffer: behold, the devil shall cast some of you into prison, that ye may be tried; and ye shall have tribulation ten days: be thou faithful unto death, and I will give thee a crown of life. %%% Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu. 66REV002.011 He that hath an ear, let him hear what the Spirit saith unto the churches; He that overcometh shall not be hurt of the second death. %%% Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri. 66REV002.012 And to the angel of the church in Pergamos write; These things saith he which hath the sharp sword with two edges; %%% Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, nti 66REV002.013 I know thy works, and where thou dwellest, even where Satan's seat is: and thou holdest fast my name, and hast not denied my faith, even in those days wherein Antipas was my faithful martyr, who was slain among you, where Satan dwelleth. %%% Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula. 66REV002.014 But I have a few things against thee, because thou hast there them that hold the doctrine of Balaam, who taught Balac to cast a stumblingblock before the children of Israel, to eat things sacrificed unto idols, and to commit fornication. %%% Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda. 66REV002.015 So hast thou also them that hold the doctrine of the Nicolaitanes, which thing I hate. %%% Era naawe bw'otyo olina abakwata okuyigiriza kw'Abanikolayiti. 66REV002.016 Repent; or else I will come unto thee quickly, and will fight against them with the sword of my mouth. %%% Kale weenenye; naye bw'otalyenenya, njija gy'oli mangu, era ndirwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange. 66REV002.017 He that hath an ear, let him hear what the Spirit saith unto the churches; To him that overcometh will I give to eat of the hidden manna, and will give him a white stone, and in the stone a new name written, which no man knoweth saving he that receiveth it. %%% Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja ejjeru, era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya: omuntu yenna ly'atamanyi wabula aweebwa. 66REV002.018 And unto the angel of the church in Thyatira write; These things saith the Son of God, who hath his eyes like unto a flame of fire, and his feet are like fine brass; %%% Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti 66REV002.019 I know thy works, and charity, and service, and faith, and thy patience, and thy works; and the last to be more than the first. %%% Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye. 66REV002.020 Notwithstanding I have a few things against thee, because thou sufferest that woman Jezebel, which calleth herself a prophetess, to teach and to seduce my servants to commit fornication, and to eat things sacrificed unto idols. %%% Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi. 66REV002.021 And I gave her space to repent of her fornication; and she repented not. %%% Era nnamuwa ebbanga okwenenya; n'atayagala kwenenya mu bwenzi bwe. 66REV002.022 Behold, I will cast her into a bed, and them that commit adultery with her into great tribulation, except they repent of their deeds. %%% Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye. 66REV002.023 And I will kill her children with death; and all the churches shall know that I am he which searcheth the reins and hearts: and I will give unto every one of you according to your works. %%% Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima : era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri. 66REV002.024 But unto you I say, and unto the rest in Thyatira, as many as have not this doctrine, and which have not known the depths of Satan, as they speak; I will put upon you none other burden. %%% Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera; sibateekako mmwe mugugu mulala. 66REV002.025 But that which ye have already hold fast till I come. %%% Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja. 66REV002.026 And he that overcometh, and keepeth my works unto the end, to him will I give power over the nations: %%% Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga: 66REV002.027 And he shall rule them with a rod of iron; as the vessels of a potter shall they be broken to shivers: even as I received of my Father. %%% era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange; 66REV002.028 And I will give him the morning star. %%% era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya. 66REV002.029 He that hath an ear, let him hear what the Spirit saith unto the churches. %%% Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. 66REV003.001 And unto the angel of the church in Sardis write; These things saith he that hath the seven Spirits of God, and the seven stars; I know thy works, that thou hast a name that thou livest, and art dead. %%% Era eri malayika ow'ekkanisa y’omu Saadi wandiika nti Bw’ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n’emunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu. 66REV003.002 Be watchful, and strengthen the things which remain, that are ready to die: for I have not found thy works perfect before God. %%% Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebyali bigenda okufa: kubanga ssaalaba ku bikolwa byo ekyatuukirira mu maaso ga Katonda wange. 66REV003.003 Remember therefore how thou hast received and heard, and hold fast, and repent. If therefore thou shalt not watch, I will come on thee as a thief, and thou shalt not know what hour I will come upon thee. %%% Kale jjukira bwe waaweebwa ne bwe wawulira; okwate, weenenye. Kale bw'otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli. 66REV003.004 Thou hast a few names even in Sardis which have not defiled their garments; and they shall walk with me in white: for they are worthy. %%% Naye olina amannya matono mu Saadi agataayonoona ngoye zaabwe: era balitambula nange mu ngoye njeru; kubanga basaanidde. 66REV003.005 He that overcometh, the same shall be clothed in white raiment; and I will not blot out his name out of the book of life, but I will confess his name before my Father, and before his angels. %%% Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne mu maaso ga bamalayika be. 66REV003.006 He that hath an ear, let him hear what the Spirit saith unto the churches. %%% Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. 66REV003.007 And to the angel of the church in Philadelphia write; These things saith he that is holy, he that is true, he that hath the key of David, he that openeth, and no man shutteth; and shutteth, and no man openeth; %%% Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti bw’ati bw'ayogera oyo omutukuvu ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, nti 66REV003.008 I know thy works: behold, I have set before thee an open door, and no man can shut it: for thou hast a little strength, and hast kept my word, and hast not denied my name. %%% Mmanyi ebikolwa byo (laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw'atayinza kuggalawo) ng'olina amaanyi matono n’okwata ekigambo kyange, so tewegaana linnya lyange. 66REV003.009 Behold, I will make them of the synagogue of Satan, which say they are Jews, and are not, but do lie; behold, I will make them to come and worship before thy feet, and to know that I have loved thee. %%% Laba, ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okusinza mu maaso g'ebigere byo era ndibamanyisa nga nnakwagala. 66REV003.010 Because thou hast kept the word of my patience, I also will keep thee from the hour of temptation, which shall come upon all the world, to try them that dwell upon the earth. %%% Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abatuula ku nsi. 66REV003.011 Behold, I come quickly: hold that fast which thou hast, that no man take thy crown. v %%% Njija mangu: nyweza ky'olina, omuntu aleme okutwala engule yo. 66REV003.012 Him that overcometh will I make a pillar in the temple of my God, and he shall go no more out: and I will write upon him the name of my God, and the name of the city of my God, which is new Jerusalem, which cometh down out of heaven from my God: and I will write upon him my new name. %%% Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya. 66REV003.013 He that hath an ear, let him hear what the Spirit saith unto the churches. %%% Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. 66REV003.014 And unto the angel of the church of the Laodiceans write; These things saith the Amen, the faithful and true witness, the beginning of the creation of God; %%% Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, nti 66REV003.015 I know thy works, that thou art neither cold nor hot: I would thou wert cold or hot. %%% Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma. 66REV003.016 So then because thou art lukewarm, and neither cold nor hot, I will spue thee out of my mouth. %%% Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma, ndikusesema mu kamwa kange. 66REV003.017 Because thou sayest, I am rich, and increased with goods, and have need of nothing; and knowest not that thou art wretched, and miserable, and poor, and blind, and naked: %%% Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere: 66REV003.018 I counsel thee to buy of me gold tried in the fire, that thou mayest be rich; and white raiment, that thou mayest be clothed, and that the shame of thy nakedness do not appear; and anoint thine eyes with eyesalve, that thou mayest see. %%% nkuweerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe. 66REV003.019 As many as I love, I rebuke and chasten: be zealous therefore, and repent. %%% Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye. 66REV003.020 Behold, I stand at the door, and knock: if any man hear my voice, and open the door, I will come in to him, and will sup with him, and he with me. %%% Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange. 66REV003.021 To him that overcometh will I grant to sit with me in my throne, even as I also overcame, and am set down with my Father in his throne. %%% Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka. 66REV003.022 He that hath an ear, let him hear what the Spirit saith unto the churches. %%% Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. 66REV004.001 After this I looked, and, behold, a door was opened in heaven: and the first voice which I heard was as it were of a trumpet talking with me; which said, Come up hither, and I will shew thee things which must be hereafter. %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, n'eddoboozi lye nnasooka okuwulira, ng'ery'akagombe, nga lyogera nange, ng'ayogera nti Linnya okutuuka wano, nange nnaakulaga ebigwanira okubeerawo oluvannyuma lw'ebyo. 66REV004.002 And immediately I was in the spirit: and, behold, a throne was set in heaven, and one sat on the throne. %%% Amangu ago nnali mu Mwoyo: era, laba, entebe ey'obwakabaka yali ng'eteekeddwawo mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe; 66REV004.003 And he that sat was to look upon like a jasper and a sardine stone: and there was a rainbow round about the throne, in sight like unto an emerald. %%% naye eyali atudde yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadio okulabika: era nga waliwo ne musoke okwetooloola entebe eyali afaanana nga zumaliidi okulabika. 66REV004.004 And round about the throne were four and twenty seats: and upon the seats I saw four and twenty elders sitting, clothed in white raiment; and they had on their heads crowns of gold. %%% Entebe ey'obwakabaka yali yeetooloddwa entebe ez'obwakabaka amakumi abiri mu nnya: ne ku ntebe kwaliko abakadde amakumi abiri mu bana nga batudde, nga bambadde engoye enjeru; ne ku mitwe gyabwe engule eza zaabu. 66REV004.005 And out of the throne proceeded lightnings and thunderings and voices: and there were seven lamps of fire burning before the throne, which are the seven Spirits of God. %%% Ne ku ntebe nga kuvaako okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. N'ettabaaza omusanvu ez'omuliro nga zaaka mu maaso g'entebe, gye myoyo omusanvu egya Katonda; 66REV004.006 And before the throne there was a sea of glass like unto crystal: and in the midst of the throne, and round about the throne, were four beasts full of eyes before and behind. %%% ne mu maaso g'entebe ng'ennyanja ey'endabirwamu, efaanana nga kulusitalo; ne wakati w'entebe n'okwetooloola entebe ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'ennyuma. 66REV004.007 And the first beast was like a lion, and the second beast like a calf, and the third beast had a face as a man, and the fourth beast was like a flying eagle. %%% N'ekiramu eky'olubereberye kyali kifaanana ng'empologoma, n'ekiramu eky'okubiri, ng'ennyana, n'ekiramu eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'ekiramu eky'okuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka. 66REV004.008 And the four beasts had each of them six wings about him; and they were full of eyes within: and they rest not day and night, saying, Holy, holy, holy, LORD God Almighty, which was, and is, and is to come. %%% N'ebiramu ebina, nga birina buli kimu ebiwaawaatiro mukaaga, bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda: so tebiriiko kuwummula emisana n'ekiro nga byogera nti Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo. 66REV004.009 And when those beasts give glory and honour and thanks to him that sat on the throne, who liveth for ever and ever, %%% Era ebiramu bwe birimuwa ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe, 66REV004.010 The four and twenty elders fall down before him that sat on the throne, and worship him that liveth for ever and ever, and cast their crowns before the throne, saying, %%% abakadde amakumi abiri mu bana balivuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era balisinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era balisuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti 66REV004.011 Thou art worthy, O Lord, to receive glory and honour and power: for thou hast created all things, and for thy pleasure they are and were created. %%% Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa. 66REV005.001 And I saw in the right hand of him that sat on the throne a book written within and on the backside, sealed with seven seals. %%% Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu. 66REV005.002 And I saw a strong angel proclaiming with a loud voice, Who is worthy to open the book, and to loose the seals thereof? %%% Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu? 66REV005.003 And no man in heaven, nor in earth, neither under the earth, was able to open the book, neither to look thereon. %%% Ne watabaawo mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira. 66REV005.004 And I wept much, because no man was found worthy to open and to read the book, neither to look thereon. %%% Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira: 66REV005.005 And one of the elders saith unto me, Weep not: behold, the Lion of the tribe of Juda, the Root of David, hath prevailed to open the book, and to loose the seven seals thereof. %%% omu ku bakadde n'aŋŋamba nti Tokaaba: laba, Empologoma ow'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, yawangula, okwanjuluza ekitabo n'obubonero bwakyo omusanvu. 66REV005.006 And I beheld, and, lo, in the midst of the throne and of the four beasts, and in the midst of the elders, stood a Lamb as it had been slain, having seven horns and seven eyes, which are the seven Spirits of God sent forth into all the earth. %%% Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna. 66REV005.007 And he came and took the book out of the right hand of him that sat upon the throne. %%% N'ajja n'akiggya mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe. 66REV005.008 And when he had taken the book, the four beasts and four and twenty elders fell down before the Lamb, having every one of them harps, and golden vials full of odours, which are the prayers of saints. %%% Bwe yatoola ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu bana ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu. 66REV005.009 And they sung a new song, saying, Thou art worthy to take the book, and to open the seals thereof: for thou wast slain, and hast redeemed us to God by thy blood out of every kindred, and tongue, and people, and nation; %%% Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti Osaanidde okutoola ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n'ogulira Katonda olw'omusaayi gwo mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga, 66REV005.010 And hast made us unto our God kings and priests: and we shall reign on the earth. %%% n'obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi. 66REV005.011 And I beheld, and I heard the voice of many angels round about the throne and the beasts and the elders: and the number of them was ten thousand times ten thousand, and thousands of thousands; %%% Ne ndaba ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi abeetoolodde entebe n'ebiramu n'abakadde; n'omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi; 66REV005.012 Saying with a loud voice, Worthy is the Lamb that was slain to receive power, and riches, and wisdom, and strength, and honour, and glory, and blessing. %%% nga boogera n'eddoboozi ddene nti Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa. 66REV005.013 And every creature which is in heaven, and on the earth, and under the earth, and such as are in the sea, and all that are in them, heard I saying, Blessing, and honour, and glory, and power, be unto him that sitteth upon the throne, and unto the Lamb for ever and ever. %%% Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne ku nnyanja, n'ebirimu byonna ne mbiwulira byonna nga byogera nti Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga, omukisa gubenga n'ettendo n'ekitiibwa n'amaanyi emirembe n'emirembe. 66REV005.014 And the four beasts said, Amen. And the four and twenty elders fell down and worshipped him that liveth for ever and ever. %%% N'ebiramu ebina ne byogera nti Amiina. N'abakadde ne bavuunama ne basinza. 66REV006.001 And I saw when the Lamb opened one of the seals, and I heard, as it were the noise of thunder, one of the four beasts saying, Come and see. %%% Ne ndaba Omwana gw'endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti Jjangu olabe. 66REV006.002 And I saw, and behold a white horse: and he that sat on him had a bow; and a crown was given unto him: and he went forth conquering, and to conquer. %%% Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo atuddeko ng'alina omutego; n’aweebwa engule: n'agenda ng'awangula, era awangule. 66REV006.003 And when he had opened the second seal, I heard the second beast say, Come and see. %%% Bwe yabembula akabonero ak'okubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti Jjangu olabe. 66REV006.004 And there went out another horse that was red: and power was given to him that sat thereon to take peace from the earth, and that they should kill one another: and there was given unto him a great sword. %%% N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battiŋŋane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene. 66REV006.005 And when he had opened the third seal, I heard the third beast say, Come and see. And I beheld, and lo a black horse; and he that sat on him had a pair of balances in his hand. %%% Bwe yabembula akabonero ak'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti Jjangu olabe. Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu; n'eyali atuddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe. 66REV006.006 And I heard a voice in the midst of the four beasts say, A measure of wheat for a penny, and three measures of barley for a penny; and see thou hurt not the oil and the wine. %%% Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; amafuta n'omwenge so tobyonoona. 66REV006.007 And when he had opened the fourth seal, I heard the voice of the fourth beast say, Come and see. %%% Bwe yabembula akabonero ak'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu eky'okuna nga kyogera nti Jjangu olabe. 66REV006.008 And I looked, and behold a pale horse: and his name that sat on him was Death, and Hell followed with him. And power was given unto them over the fourth part of the earth, to kill with sword, and with hunger, and with death, and with the beasts of the earth. %%% Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n'eyali atuddeko, erinnya lye Kufa; ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky'okuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n’ensolo z'ensi. 66REV006.009 And when he had opened the fifth seal, I saw under the altar the souls of them that were slain for the word of God, and for the testimony which they held: %%% Bwe yabembula akabonero ak'okutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina: 66REV006.010 And they cried with a loud voice, saying, How long, O Lord, holy and true, dost thou not judge and avenge our blood on them that dwell on the earth? %%% ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi? 66REV006.011 And white robes were given unto every one of them; and it was said unto them, that they should rest yet for a little season, until their fellowservants also and their brethren, that should be killed as they were, should be fulfilled. %%% Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa. 66REV006.012 And I beheld when he had opened the sixth seal, and, lo, there was a great earthquake; and the sun became black as sackcloth of hair, and the moon became as blood; %%% Bwe yabembula akabonero ek'omukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi; 66REV006.013 And the stars of heaven fell unto the earth, even as a fig tree casteth her untimely figs, when she is shaken of a mighty wind. %%% n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi. 66REV006.014 And the heaven departed as a scroll when it is rolled together; and every mountain and island were moved out of their places. %%% N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo. 66REV006.015 And the kings of the earth, and the great men, and the rich men, and the chief captains, and the mighty men, and every bondman, and every free man, hid themselves in the dens and in the rocks of the mountains; %%% ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi; 66REV006.016 And said to the mountains and rocks, Fall on us, and hide us from the face of him that sitteth on the throne, and from the wrath of the Lamb: %%% ne bagamba ensozi n'amayinja nti Mutugweko, mutukise mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga: 66REV006.017 For the great day of his wrath is come; and who shall be able to stand? %%% kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse; era ani ayinza okuyimirirawo? 66REV007.001 And after these things I saw four angels standing on the four corners of the earth, holding the four winds of the earth, that the wind should not blow on the earth, nor on the sea, nor on any tree. %%% Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ki muti gwonna. 66REV007.002 And I saw another angel ascending from the east, having the seal of the living God: and he cried with a loud voice to the four angels, to whom it was given to hurt the earth and the sea, %%% Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu: n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja, 66REV007.003 Saying, Hurt not the earth, neither the sea, nor the trees, till we have sealed the servants of our God in their foreheads. %%% ng'ayogera nti Temwonoona nsi, newakubadde ennyanja, newakubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero abaddu ba Katonda waffe ku byenyi byabwe. 66REV007.004 And I heard the number of them which were sealed: and there were sealed an hundred and forty and four thousand of all the tribes of the children of Israel. %%% Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako akabonero, baali kasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaateekebwako akabonero mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri. 66REV007.005 Of the tribe of Juda were sealed twelve thousand. Of the tribe of Reuben were sealed twelve thousand. Of the tribe of Gad were sealed twelve thousand. %%% Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Lewubeeni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Gaadi kakumi mu enkumi bbiri: 66REV007.006 Of the tribe of Aser were sealed twelve thousand. Of the tribe of Nephthalim were sealed twelve thousand. Of the tribe of Manasses were sealed twelve thousand. %%% Ab'omu kika kya Aseri kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Nafutaali kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Manaase kakumi mu enkumi bbiri: 66REV007.007 Of the tribe of Simeon were sealed twelve thousand. Of the tribe of Levi were sealed twelve thousand. Of the tribe of Issachar were sealed twelve thousand. %%% Ab'omu kika kya Simyoni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Leevi kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Isakaali kakumi mu enkumi bbiri: 66REV007.008 Of the tribe of Zabulon were sealed twelve thousand. Of the tribe of Joseph were sealed twelve thousand. Of the tribe of Benjamin were sealed twelve thousand. %%% Ab'omu kika kya Zebbulooni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Yusufu kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Benyamini abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri. 66REV007.009 After this I beheld, and, lo, a great multitude, which no man could number, of all nations, and kindreds, and people, and tongues, stood before the throne, and before the Lamb, clothed with white robes, and palms in their hands; %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, mu buli gwanga n'ebika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, ga bambadde ebyambalo ebyeru, amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe; 66REV007.010 And cried with a loud voice, saying, Salvation to our God which sitteth upon the throne, and unto the Lamb. %%% ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga boogera nti obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga. 66REV007.011 And all the angels stood round about the throne, and about the elders and the four beasts, and fell before the throne on their faces, and worshipped God, %%% Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetooloodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina; ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda, 66REV007.012 Saying, Amen: Blessing, and glory, and wisdom, and thanksgiving, and honour, and power, and might, be unto our God for ever and ever. Amen. %%% nga boogera nti Amiina: omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe. Amiina. 66REV007.013 And one of the elders answered, saying unto me, What are these which are arrayed in white robes? and whence came they? %%% Omu ku bakadde n'addamu, ng'aŋŋamba nti Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa? 66REV007.014 And I said unto him, Sir, thou knowest. And he said to me, These are they which came out of great tribulation, and have washed their robes, and made them white in the blood of the Lamb. %%% Ne mmugamba nti Mukama wange, gw'omanyi. N'aŋŋamba nti Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga. 66REV007.015 Therefore are they before the throne of God, and serve him day and night in his temple: and he that sitteth on the throne shall dwell among them. %%% Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu yeekaalu ye: n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo. 66REV007.016 They shall hunger no more, neither thirst any more; neither shall the sun light on them, nor any heat. %%% Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate, so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna: 66REV007.017 For the Lamb which is in the midst of the throne shall feed them, and shall lead them unto living fountains of waters: and God shall wipe away all tears from their eyes. %%% kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe y'anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu: era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe. 66REV008.001 And when he had opened the seventh seal, there was silence in heaven about the space of half an hour. %%% Bwe Yabembula akabonero ak'omusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa. 66REV008.002 And I saw the seven angels which stood before God; and to them were given seven trumpets. %%% Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu. 66REV008.003 And another angel came and stood at the altar, having a golden censer; and there was given unto him much incense, that he should offer it with the prayers of all saints upon the golden altar which was before the throne. %%% Ne malayika omulala n'ajja n'ayimirira ku kyoto, ng'alina ekyotezo ekya zaabu; n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe. 66REV008.004 And the smoke of the incense, which came with the prayers of the saints, ascended up before God out of the angel's hand. %%% N'omukka gw'obubaane ne gulinnya wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda. 66REV008.005 And the angel took the censer, and filled it with fire of the altar, and cast it into the earth: and there were voices, and thunderings, and lightnings, and an earthquake. %%% Malayika n'atwala ekyotezo; n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano. 66REV008.006 And the seven angels which had the seven trumpets prepared themselves to sound. %%% Ne bamalayika omusanvu abalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa. 66REV008.007 The first angel sounded, and there followed hail and fire mingled with blood, and they were cast upon the earth: and the third part of trees was burnt up, and all green grass was burnt up. %%% Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya. 66REV008.008 And the second angel sounded, and as it were a great mountain burning with fire was cast into the sea: and the third part of the sea became blood; %%% Malayika ow'okubiri n'afuuwa; ng'olusozi olunene olwaka omuliro ne lusuulibwa mu nnyanja: n'ekitundu eky'okusatu eky'ennyanja ne kifuuka musaayi; 66REV008.009 And the third part of the creatures which were in the sea, and had life, died; and the third part of the ships were destroyed. %%% ne bifa ekitundu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja, ebiramu, n'ekitundu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira. 66REV008.010 And the third angel sounded, and there fell a great star from heaven, burning as it were a lamp, and it fell upon the third part of the rivers, and upon the fountains of waters; %%% Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi. 66REV008.011 And the name of the star is called Wormwood: and the third part of the waters became wormwood; and many men died of the waters, because they were made bitter. %%% N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso: n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso: n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa. 66REV008.012 And the fourth angel sounded, and the third part of the sun was smitten, and the third part of the moon, and the third part of the stars; so as the third part of them was darkened, and the day shone not for a third part of it, and the night likewise. %%% Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n’ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye; ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo. 66REV008.013 And I beheld, and heard an angel flying through the midst of heaven, saying with a loud voice, Woe, woe, woe, to the inhabiters of the earth by reason of the other voices of the trumpet of the three angels, which are yet to sound! %%% Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa. 66REV009.001 And the fifth angel sounded, and I saw a star fall from heaven unto the earth: and to him was given the key of the bottomless pit. %%% Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi: n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma. 66REV009.002 And he opened the bottomless pit; and there arose a smoke out of the pit, as the smoke of a great furnace; and the sun and the air were darkened by reason of the smoke of the pit. %%% N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bizikizibwa olw'omukka ogw'omu bunnya. 66REV009.003 And there came out of the smoke locusts upon the earth: and unto them was given power, as the scorpions of the earth have power. %%% Ne mu mukka ne muva enzige ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza. 66REV009.004 And it was commanded them that they should not hurt the grass of the earth, neither any green thing, neither any tree; but only those men which have not the seal of God in their foreheads. %%% Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abatalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe. 66REV009.005 And to them it was given that they should not kill them, but that they should be tormented five months: and their torment was as the torment of a scorpion, when he striketh a man. %%% Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano: n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu. 66REV009.006 And in those days shall men seek death, and shall not find it; and shall desire to die, and death shall flee from them. %%% Ne mu nnaku ezo abantu balinoonya okufa, so tebalikulaba n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubadduka. 66REV009.007 And the shapes of the locusts were like unto horses prepared unto battle; and on their heads were as it were crowns like gold, and their faces were as the faces of men. %%% N'ebifaananyi by'enzige byafaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo ng'engule ezifaanana nga zaabu, n'amaaso gaazo ng'amaaso g'abantu. 66REV009.008 And they had hair as the hair of women, and their teeth were as the teeth of lions. %%% Era zaalina enviiri ng'enviiri z'abakazi, n'amannyo gaazo gaali ng'ag'empologoma. 66REV009.009 And they had breastplates, as it were breastplates of iron; and the sound of their wings was as the sound of chariots of many horses running to battle. %%% Era zaalina ebizibawo ng'ebizibawo eby'ekyuma, n'edoboozi ly'ebiwaawaatiro byazo ng'eddoboozi ly'amagaali, ery'embalaasi ennyingi nga zifubutuka okuyingira mu lutalo. 66REV009.010 And they had tails like unto scorpions, and there were stings in their tails: and their power was to hurt men five months. %%% Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa, n'emimwa; ne mu mikira gyazo mulimu obuyinza bwazo okulumira abantu emyezi etaano. 66REV009.011 And they had a king over them, which is the angel of the bottomless pit, whose name in the Hebrew tongue is Abaddon, but in the Greek tongue hath his name Apollyon. %%% Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma: erinnya mu Lwebbulaniya Abadoni, ne mu Luyonaani alina erinnya Apoliyaani. 66REV009.012 One woe is past; and, behold, there come two woes more hereafter. %%% Obubi obumu buyise: laba, obubi bubiri nate bujja oluvannyuma. 66REV009.013 And the sixth angel sounded, and I heard a voice from the four horns of the golden altar which is before God, %%% Malayika ow'omukaaga n'afuuwa, ne mpulira eddoboozi eryava mu nsonda ennya ez'ekyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, 66REV009.014 Saying to the sixth angel which had the trumpet, Loose the four angels which are bound in the great river Euphrates. %%% ng'agamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Fulaati. 66REV009.015 And the four angels were loosed, which were prepared for an hour, and a day, and a month, and a year, for to slay the third part of men. %%% Bamalayika abana ne basumululwa abaali bategekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu. 66REV009.016 And the number of the army of the horsemen were two hundred thousand thousand: and I heard the number of them. %%% N'omuwendo gw'eggye ery'abeebagala embalaasi obukumi kakumi emirundi ebiri: ne mpulira omuwendo gwabwe. 66REV009.017 And thus I saw the horses in the vision, and them that sat on them, having breastplates of fire, and of jacinth, and brimstone: and the heads of the horses were as the heads of lions; and out of their mouths issued fire and smoke and brimstone. %%% Era bwe nnalaba bwe nti embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi ng'emitwe gy'empologoma; ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti. 66REV009.018 By these three was the third part of men killed, by the fire, and by the smoke, and by the brimstone, which issued out of their mouths. %%% Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatute, kwe kugamba nti omuliro n'omukka n'ekibiriiti ebyava mu bumwa bwazo, ne mufiira ekitundu eky'okusatu eky'abantu. 66REV009.019 For their power is in their mouth, and in their tails: for their tails were like unto serpents, and had heads, and with them they do hurt. %%% Kubanga obuyinza bw'embalaasi buli mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo: kubanga emikira gyazo gifaanana ng'emisota, nga girina emitwe; era gye zirumisa. 66REV009.020 And the rest of the men which were not killed by these plagues yet repented not of the works of their hands, that they should not worship devils, and idols of gold, and silver, and brass, and stone, and of wood: which neither can see, nor hear, nor walk: %%% N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula: 66REV009.021 Neither repented they of their murders, nor of their sorceries, nor of their fornication, nor of their thefts. %%% ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe. 66REV010.001 And I saw another mighty angel come down from heaven, clothed with a cloud: and a rainbow was upon his head, and his face was as it were the sun, and his feet as pillars of fire: %%% Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjuba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro; 66REV010.002 And he had in his hand a little book open: and he set his right foot upon the sea, and his left foot on the earth, %%% era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi; 66REV010.003 And cried with a loud voice, as when a lion roareth: and when he had cried, seven thunders uttered their voices. %%% n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo. 66REV010.004 And when the seven thunders had uttered their voices, I was about to write: and I heard a voice from heaven saying unto me, Seal up those things which the seven thunders uttered, and write them not. %%% Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika. 66REV010.005 And the angel which I saw stand upon the sea and upon the earth lifted up his hand to heaven, %%% Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, 66REV010.006 And sware by him that liveth for ever and ever, who created heaven, and the things that therein are, and the earth, and the things that therein are, and the sea, and the things which are therein, that there should be time no longer: %%% n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate: 66REV010.007 But in the days of the voice of the seventh angel, when he shall begin to sound, the mystery of God should be finished, as he hath declared to his servants the prophets. %%% naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba ng'agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi. 66REV010.008 And the voice which I heard from heaven spake unto me again, and said, Go and take the little book which is open in the hand of the angel which standeth upon the sea and upon the earth. %%% N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi. 66REV010.009 And I went unto the angel, and said unto him, Give me the little book. And he said unto me, Take it, and eat it up; and it shall make thy belly bitter, but it shall be in thy mouth sweet as honey. %%% Ne ŋŋenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N'aŋŋamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki. 66REV010.010 And I took the little book out of the angel's hand, and ate it up; and it was in my mouth sweet as honey: and as soon as I had eaten it, my belly was bitter. %%% Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa. 66REV010.011 And he said unto me, Thou must prophesy again before many peoples, and nations, and tongues, and kings. %%% Ne baŋŋamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n'amawanga n'ennimi ne bakabaka abangi. 66REV011.001 And there was given me a reed like unto a rod: and the angel stood, saying, Rise, and measure the temple of God, and the altar, and them that worship therein. %%% Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, malayika ng'ayogera nti Golokoka, ogere yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinzizaamu. 66REV011.002 But the court which is without the temple leave out, and measure it not; for it is given unto the Gentiles: and the holy city shall they tread under foot forty and two months. %%% N'oluggya oluli ebweru wa yeekaalu luleke ebweru, so tolugera; kubanga lwaweebwa ab'amawanga: n'ekibuga ekitukuvu balikirinnyiririra emyezi amakumi ana mu ebiri. 66REV011.003 And I will give power unto my two witnesses, and they shall prophesy a thousand two hundred and threescore days, clothed in sackcloth. %%% Nange ndibawa abajulirwa bange babiri, era baliragulira ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bambadde ebibukutu. 66REV011.004 These are the two olive trees, and the two candlesticks standing before the God of the earth. %%% Abo gye mizeyituuni ebiri n'ettabaaza ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi. 66REV011.005 And if any man will hurt them, fire proceedeth out of their mouth, and devoureth their enemies: and if any man will hurt them, he must in this manner be killed. %%% Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. 66REV011.006 These have power to shut heaven, that it rain not in the days of their prophecy: and have power over waters to turn them to blood, and to smite the earth with all plagues, as often as they will. %%% Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe: era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala. 66REV011.007 And when they shall have finished their testimony, the beast that ascendeth out of the bottomless pit shall make war against them, and shall overcome them, and kill them. %%% Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta. 66REV011.008 And their dead bodies shall lie in the street of the great city, which spiritually is called Sodom and Egypt, where also our Lord was crucified. %%% N'omulambo gwabwe guli mu luguudo lw'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa. 66REV011.009 And they of the people and kindreds and tongues and nations shall see their dead bodies three days and an half, and shall not suffer their dead bodies to be put in graves. %%% Era ab'omu bantu n'ebika n'ennimi n'amawanga baalabira omulambo gwabwe ennaku ssatu n'ekitundu, ne bataganya mirambo gyabwe okuziikibwa mu ntaana. 66REV011.010 And they that dwell upon the earth shall rejoice over them, and make merry, and shall send gifts one to another; because these two prophets tormented them that dwelt on the earth. %%% N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi. 66REV011.011 And after three days and an half the Spirit of life from God entered into them, and they stood upon their feet; and great fear fell upon them which saw them. %%% Oluvannyuma lw'ennaku ziri essatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo ne bayimirira ku bigere byabwe okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba. 66REV011.012 And they heard a great voice from heaven saying unto them, Come up hither. And they ascended up to heaven in a cloud; and their enemies beheld them. %%% Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti Mulinnye okutuuka wano. Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne babalaba. 66REV011.013 And the same hour was there a great earthquake, and the tenth part of the city fell, and in the earthquake were slain of men seven thousand: and the remnant were affrighted, and gave glory to the God of heaven. %%% Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu. 66REV011.014 The second woe is past; and, behold, the third woe cometh quickly. %%% Obubi obw'okubiri buyise: laba, obubi obw'okusatu bujja mangu. 66REV011.015 And the seventh angel sounded; and there were great voices in heaven, saying, The kingdoms of this world are become the kingdoms of our Lord, and of his Christ; and he shall reign for ever and ever. %%% Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n'emirembe. 66REV011.016 And the four and twenty elders, which sat before God on their seats, fell upon their faces, and worshipped God, %%% N'abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, 66REV011.017 Saying, We give thee thanks, O LORD God Almighty, which art, and wast, and art to come; because thou hast taken to thee thy great power, and hast reigned. %%% nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga. 66REV011.018 And the nations were angry, and thy wrath is come, and the time of the dead, that they should be judged, and that thou shouldest give reward unto thy servants the prophets, and to the saints, and them that fear thy name, small and great; and shouldest destroy them which destroy the earth. %%% Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi. 66REV011.019 And the temple of God was opened in heaven, and there was seen in his temple the ark of his testament: and there were lightnings, and voices, and thunderings, and an earthquake, and great hail. %%% Ne yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi. 66REV012.001 And there appeared a great wonder in heaven; a woman clothed with the sun, and the moon under her feet, and upon her head a crown of twelve stars: %%% N'akabonero akanene ne kalabika mu ggulu, omukazi ng'ayambadde enjuba, n'omwezi nga guli wansi w'ebigere bye, ne ku mutwe gwe nga kuliko engule ey'emmunyeenye kkumi na bbiri; 66REV012.002 And she being with child cried, travailing in birth, and pained to be delivered. %%% era ng'ali lubuto: n'akaaba ng'alumwa era ng'abalagalwa okuzaala. 66REV012.003 And there appeared another wonder in heaven; and behold a great red dragon, having seven heads and ten horns, and seven crowns upon his heads. %%% Ne walabika akabonero akalala mu ggulu; era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu. 66REV012.004 And his tail drew the third part of the stars of heaven, and did cast them to the earth: and the dragon stood before the woman which was ready to be delivered, for to devour her child as soon as it was born. %%% N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu, ne guzisuula ku nsi: ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi, eyali agenda okuzaala, bw'alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we. 66REV012.005 And she brought forth a man child, who was to rule all nations with a rod of iron: and her child was caught up unto God, and to his throne. %%% N'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n'omuggo ogw'ekyuma: n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka. 66REV012.006 And the woman fled into the wilderness, where she hath a place prepared of God, that they should feed her there a thousand two hundred and threescore days. %%% N'omukazi n'adduka n'atuuka mu ddungu, gye yalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamuliisizenga eyo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu nkaaga. 66REV012.007 And there was war in heaven: Michael and his angels fought against the dragon; and the dragon fought and his angels, %%% Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n'ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo; 66REV012.008 And prevailed not; neither was their place found any more in heaven. %%% ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. 66REV012.009 And the great dragon was cast out, that old serpent, called the Devil, and Satan, which deceiveth the whole world: he was cast out into the earth, and his angels were cast out with him. %%% N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo. 66REV012.010 And I heard a loud voice saying in heaven, Now is come salvation, and strength, and the kingdom of our God, and the power of his Christ: for the accuser of our brethren is cast down, which accused them before our God day and night. %%% Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti Kaakano obulokozi buzze n'amaanyi n'obwakabaka bwa Katonda waffe, n'obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa baganda baffe yasuulibwa, abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n'ekiro. 66REV012.011 And they overcame him by the blood of the Lamb, and by the word of their testimony; and they loved not their lives unto the death. %%% Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'okutegeeza kwabwe; ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa. 66REV012.012 Therefore rejoice, ye heavens, and ye that dwell in them. Woe to the inhabiters of the earth and of the sea! for the devil is come down unto you, having great wrath, because he knoweth that he hath but a short time. %%% Kale musanyuke, eggulu n'abatuulamu. Zisanze ensi n'ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi ng'alina akaseera katono. 66REV012.013 And when the dragon saw that he was cast unto the earth, he persecuted the woman which brought forth the man child. %%% Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi. 66REV012.014 And to the woman were given two wings of a great eagle, that she might fly into the wilderness, into her place, where she is nourished for a time, and times, and half a time, from the face of the serpent. %%% Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke okutuuka mu ddungu mu kifo kye, gy'aliisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera, mu maaso g'omusota. 66REV012.015 And the serpent cast out of his mouth water as a flood after the woman, that he might cause her to be carried away of the flood. %%% N'omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo ennyuma w'omukazi amazzi ng'omugga, gulyoke gumutwaze omugga. 66REV012.016 And the earth helped the woman, and the earth opened her mouth, and swallowed up the flood which the dragon cast out of his mouth. %%% Ensi n'eyamba omukazi, ensi n'eyasama akamwa kaayo, n’enywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo. 66REV012.017 And the dragon was wroth with the woman, and went to make war with the remnant of her seed, which keep the commandments of God, and have the testimony of Jesus Christ. %%% Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n'ab'omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu: 66REV013.001 And I stood upon the sand of the sea, and saw a beast rise up out of the sea, having seven heads and ten horns, and upon his horns ten crowns, and upon his heads the name of blasphemy. %%% ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ensolo ng'eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag'obuvvoozi. 66REV013.002 And the beast which I saw was like unto a leopard, and his feet were as the feet of a bear, and his mouth as the mouth of a lion: and the dragon gave him his power, and his seat, and great authority. %%% N'ensolo gye nnalaba yali efaanana ng'engo, n'ebigere byayo ng'ebya ddubu, n'akamwa kaayo ng'akamwa k'empologoma: n'ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n'entebe yaayo ey'obwakabaka, n'obuyinza obungi. 66REV013.003 And I saw one of his heads as it were wounded to death; and his deadly wound was healed: and all the world wondered after the beast. %%% Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa; n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona: n'ensi zonna ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya; 66REV013.004 And they worshipped the dragon which gave power unto the beast: and they worshipped the beast, saying, Who is like unto the beast? who is able to make war with him? %%% ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng'ensolo? era ani ayinza okulwana nayo? 66REV013.005 And there was given unto him a mouth speaking great things and blasphemies; and power was given unto him to continue forty and two months. %%% n'eweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi; n'eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. 66REV013.006 And he opened his mouth in blasphemy against God, to blaspheme his name, and his tabernacle, and them that dwell in heaven. %%% N'eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu. 66REV013.007 And it was given unto him to make war with the saints, and to overcome them: and power was given him over all kindreds, and tongues, and nations. %%% N'eweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula: n'eweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga. 66REV013.008 And all that dwell upon the earth shall worship him, whose names are not written in the book of life of the Lamb slain from the foundation of the world. %%% Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli atawandiikiddwa linnya lye mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi. 66REV013.009 If any man have an ear, let him hear. %%% Omuntu yenna bw'aba n'okutu awulire. 66REV013.010 He that leadeth into captivity shall go into captivity: he that killeth with the sword must be killed with the sword. Here is the patience and the faith of the saints. %%% Omuntu yenna bw'ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw'atta n'ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n'ekitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu. 66REV013.011 And I beheld another beast coming up out of the earth; and he had two horns like a lamb, and he spake as a dragon. %%% Ne ndaba ensolo endala ng'eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, n'eyogera ng'ogusota. 66REV013.012 And he exerciseth all the power of the first beast before him, and causeth the earth and them which dwell therein to worship the first beast, whose deadly wound was healed. %%% N'ekoza obuyinza bwonna obw'ensolo ey'olubereberye mu maaso gaayo. N'esinzisa ensi n'abatuulamu ensolo ey'olubereberye, eyawona ekiwundu eky'okufa. 66REV013.013 And he doeth great wonders, so that he maketh fire come down from heaven on the earth in the sight of men, %%% N'ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g'abantu. 66REV013.014 And deceiveth them that dwell on the earth by the means of those miracles which he had power to do in the sight of the beast; saying to them that dwell on the earth, that they should make an image to the beast, which had the wound by a sword, and did live. %%% N'erimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g'ensolo; ng'egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky'ekitala n'eba nnamu. 66REV013.015 And he had power to give life unto the image of the beast, that the image of the beast should both speak, and cause that as many as would not worship the image of the beast should be killed. %%% N'eweebwa okuwa ekifaananyi eky'ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky'ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo. 66REV013.016 And he causeth all, both small and great, rich and poor, free and bond, to receive a mark in their right hand, or in their foreheads: %%% N'ewaliriza bonna, abato n'abakulu, n'abagagga n'abaavu, n'ab'eddembe n'abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe; 66REV013.017 And that no man might buy or sell, save he that had the mark, or the name of the beast, or the number of his name. %%% era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly'ensolo oba omuwendo gw'erinnya lyayo. 66REV013.018 Here is wisdom. Let him that hath understanding count the number of the beast: for it is the number of a man; and his number is Six hundred threescore and six. %%% Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga. 66REV014.001 And I looked, and, lo, a Lamb stood on the mount Sion, and with him an hundred forty and four thousand, having his Father's name written in their foreheads. %%% Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, era wamu naye akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, nga balina erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe. 66REV014.002 And I heard a voice from heaven, as the voice of many waters, and as the voice of a great thunder: and I heard the voice of harpers harping with their harps: %%% Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okunene: n'eddoboozi lye nnawulira ng'ery'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe: 66REV014.003 And they sung as it were a new song before the throne, and before the four beasts, and the elders: and no man could learn that song but the hundred and forty and four thousand, which were redeemed from the earth. %%% ne bayimba ng'oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaagulibwa mu nsi. 66REV014.004 These are they which were not defiled with women; for they are virgins. These are they which follow the Lamb whithersoever he goeth. These were redeemed from among men, being the firstfruits unto God and to the Lamb. %%% Abo be bateeyonoona eri abakazi; kubanga tebamanyanga mukazi. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'endiga. 66REV014.005 And in their mouth was found no guile: for they are without fault before the throne of God. %%% Era mu kamwa kaabwe temwalabika bulimba: tebaliiko bulema. 66REV014.006 And I saw another angel fly in the midst of heaven, having the everlasting gospel to preach unto them that dwell on the earth, and to every nation, and kindred, and tongue, and people, %%% Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu, 66REV014.007 Saying with a loud voice, Fear God, and give glory to him; for the hour of his judgment is come: and worship him that made heaven, and earth, and the sea, and the fountains of waters. %%% ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi. 66REV014.008 And there followed another angel, saying, Babylon is fallen, is fallen, that great city, because she made all nations drink of the wine of the wrath of her fornication. %%% Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo. 66REV014.009 And the third angel followed them, saying with a loud voice, If any man worship the beast and his image, and receive his mark in his forehead, or in his hand, %%% Ne malayika omulala ow'okusatu n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, 66REV014.010 The same shall drink of the wine of the wrath of God, which is poured out without mixture into the cup of his indignation; and he shall be tormented with fire and brimstone in the presence of the holy angels, and in the presence of the Lamb: %%% oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga: 66REV014.011 And the smoke of their torment ascendeth up for ever and ever: and they have no rest day nor night, who worship the beast and his image, and whosoever receiveth the mark of his name. %%% n'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y'erinnya lyayo. 66REV014.012 Here is the patience of the saints: here are they that keep the commandments of God, and the faith of Jesus. %%% Awo we wali okugumiikiriza kw'abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n'okukkiriza kwa Yesu. 66REV014.013 And I heard a voice from heaven saying unto me, Write, Blessed are the dead which die in the Lord from henceforth: Yea, saith the Spirit, that they may rest from their labours; and their works do follow them. %%% Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okutanula leero; weewaawo, bw'ayogera Omwoyo, balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo. 66REV014.014 And I looked, and behold a white cloud, and upon the cloud one sat like unto the Son of man, having on his head a golden crown, and in his hand a sharp sickle. %%% Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atuddeko eyali afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi. 66REV014.015 And another angel came out of the temple, crying with a loud voice to him that sat on the cloud, Thrust in thy sickle, and reap: for the time is come for thee to reap; for the harvest of the earth is ripe. %%% Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti Teekako ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi bikaze. 66REV014.016 And he that sat on the cloud thrust in his sickle on the earth; and the earth was reaped. %%% N'oyo atudde ku kire n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa. 66REV014.017 And another angel came out of the temple which is in heaven, he also having a sharp sickle. %%% Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu ey'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo eky'obwogi. 66REV014.018 And another angel came out from the altar, which had power over fire; and cried with a loud cry to him that had the sharp sickle, saying, Thrust in thy sharp sickle, and gather the clusters of the vine of the earth; for her grapes are fully ripe. %%% Ne malayika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 66REV014.019 And the angel thrust in his sickle into the earth, and gathered the vine of the earth, and cast it into the great winepress of the wrath of God. %%% Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'akisuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda. 66REV014.020 And the winepress was trodden without the city, and blood came out of the winepress, even unto the horse bridles, by the space of a thousand and six hundred furlongs. %%% N'essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z'embalaasi, n'okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga. 66REV015.001 And I saw another sign in heaven, great and marvellous, seven angels having the seven last plagues; for in them is filled up the wrath of God. %%% Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra. 66REV015.002 And I saw as it were a sea of glass mingled with fire: and them that had gotten the victory over the beast, and over his image, and over his mark, and over the number of his name, stand on the sea of glass, having the harps of God. %%% Ne ndaba ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro; abava eri ensolo n'ekifaananyi kyayo n'omuwendo gw'erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda. 66REV015.003 And they sing the song of Moses the servant of God, and the song of the Lamb, saying, Great and marvellous are thy works, Lord God Almighty; just and true are thy ways, thou King of saints. %%% Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe. 66REV015.004 Who shall not fear thee, O Lord, and glorify thy name? for thou only art holy: for all nations shall come and worship before thee; for thy judgments are made manifest. %%% Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa bye eby'obutuukirivu birabise. 66REV015.005 And after that I looked, and, behold, the temple of the tabernacle of the testimony in heaven was opened: %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu n'ebikkulwa: 66REV015.006 And the seven angels came out of the temple, having the seven plagues, clothed in pure and white linen, and having their breasts girded with golden girdles. %%% ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu. 66REV015.007 And one of the four beasts gave unto the seven angels seven golden vials full of the wrath of God, who liveth for ever and ever. %%% Ekimu eky'oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe. 66REV015.008 And the temple was filled with smoke from the glory of God, and from his power; and no man was able to enter into the temple, till the seven plagues of the seven angels were fulfilled. %%% Ne yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maanyi ge; so tewali muntu eyayinza okuyingira mu yeekaalu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu bya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira. 66REV016.001 And I heard a great voice out of the temple saying to the seven angels, Go your ways, and pour out the vials of the wrath of God upon the earth. %%% Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu yeekaalu, nga ligamba bamalayika omusanvu nti Mugende, mufuke ebibya omusanvu by'obusungu bwa Katonda ku nsi. 66REV016.002 And the first went, and poured out his vial upon the earth; and there fell a noisome and grievous sore upon the men which had the mark of the beast, and upon them which worshipped his image. %%% Ow'olubereberye n'agenda, n'afuka ekibya kye ku nsi; ne wabaawo ebbwa ebbi ezzibu ku bantu abalina enkovu y'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo. 66REV016.003 And the second angel poured out his vial upon the sea; and it became as the blood of a dead man: and every living soul died in the sea. %%% Ow'okubiri n'afuka ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli mwoyo omulamu ne gufa, n'ebyo ebyali mu nyanja. 66REV016.004 And the third angel poured out his vial upon the rivers and fountains of waters; and they became blood. %%% Ow'okusatu n'afuka ekibya kye ku migga ne mu nsulo z'amazzi, ne wabaawo omusaayi. 66REV016.005 And I heard the angel of the waters say, Thou art righteous, O Lord, which art, and wast, and shalt be, because thou hast judged thus. %%% Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo: 66REV016.006 For they have shed the blood of saints and prophets, and thou hast given them blood to drink; for they are worthy. %%% kubanga baafuka omusaayi gw'abatukuvu n'ogwa bannabbi, omusaayi ggwe gw'obawadde okunywa: basaanidde. 66REV016.007 And I heard another out of the altar say, Even so, Lord God Almighty, true and righteous are thy judgments. %%% Ne mpulira ekyoto ga kyogera nti Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, gya mazima era gya nsonga emisango gyo. 66REV016.008 And the fourth angel poured out his vial upon the sun; and power was given unto him to scorch men with fire. %%% Ow'okuna n'afuka ekibya kye ku njuba; n'eweebwa okwokya abantu n'omuliro. 66REV016.009 And men were scorched with great heat, and blasphemed the name of God, which hath power over these plagues: and they repented not to give him glory. %%% Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina amaanyi ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa. 66REV016.010 And the fifth angel poured out his vial upon the seat of the beast; and his kingdom was full of darkness; and they gnawed their tongues for pain, %%% Ow'okutaano n'afuka ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo obwakabaka bwayo ne buzikizibwa: ne beeruma ennimi zaabwe olw'obulumi, 66REV016.011 And blasphemed the God of heaven because of their pains and their sores, and repented not of their deeds. %%% ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi bwabwe n'olw'amabwa gaabwe, so tebeenenya mu bikolwa byabwe. 66REV016.012 And the sixth angel poured out his vial upon the great river Euphrates; and the water thereof was dried up, that the way of the kings of the east might be prepared. %%% Ow'omukaaga n'afuka ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe. 66REV016.013 And I saw three unclean spirits like frogs come out of the mouth of the dragon, and out of the mouth of the beast, and out of the mouth of the false prophet. %%% Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emyoyo emibi esatu, nga giri ng'ebikere: 66REV016.014 For they are the spirits of devils, working miracles, which go forth unto the kings of the earth and of the whole world, to gather them to the battle of that great day of God Almighty. %%% kubanga gye mizimu gya balubaale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya eri olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna. 66REV016.015 Behold, I come as a thief. Blessed is he that watcheth, and keepeth his garments, lest he walk naked, and they see his shame. %%% (Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.) 66REV016.016 And he gathered them together into a place called in the Hebrew tongue Armageddon. %%% Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Amagedoni. 66REV016.017 And the seventh angel poured out his vial into the air; and there came a great voice out of the temple of heaven, from the throne, saying, It is done. %%% Ow'omusanvu n'afuka ekibya kye ku bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti Kikoleddwa: 66REV016.018 And there were voices, and thunders, and lightnings; and there was a great earthquake, such as was not since men were upon the earth, so mighty an earthquake, and so great. %%% ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo. 66REV016.019 And the great city was divided into three parts, and the cities of the nations fell: and great Babylon came in remembrance before God, to give unto her the cup of the wine of the fierceness of his wrath. %%% N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe. 66REV016.020 And every island fled away, and the mountains were not found. %%% Na buli kizinga ne kidduka, so n'ensozi tezaalabika. 66REV016.021 And there fell upon men a great hail out of heaven, every stone about the weight of a talent: and men blasphemed God because of the plague of the hail; for the plague thereof was exceeding great. %%% N'omuzira omunene, buli mpeke ng'obuzito obwa ttalanta, ne gukka okuva mu ggulu ku bantu: n'abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibomyoobonyo kyagwo kinene nnyo. 66REV017.001 And there came one of the seven angels which had the seven vials, and talked with me, saying unto me, Come hither; I will shew unto thee the judgment of the great whore that sitteth upon many waters: %%% Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw'omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi; 66REV017.002 With whom the kings of the earth have committed fornication, and the inhabitants of the earth have been made drunk with the wine of her fornication. %%% bakabaka b'ensi gwe baayenda naye, n'abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe. 66REV017.003 So he carried me away in the spirit into the wilderness: and I saw a woman sit upon a scarlet coloured beast, full of names of blasphemy, having seven heads and ten horns. %%% N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyuufu, ng'ejjudde amannya ag'obuvvoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi. 66REV017.004 And the woman was arrayed in purple and scarlet colour, and decked with gold and precious stones and pearls, having a golden cup in her hand full of abominations and filthiness of her fornication: %%% Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey'obwenzi bwe, 66REV017.005 And upon her forehead was a name written, MYSTERY, BABYLON THE GREAT, THE MOTHER OF HARLOTS AND ABOMINATIONS OF THE EARTH. %%% ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI. 66REV017.006 And I saw the woman drunken with the blood of the saints, and with the blood of the martyrs of Jesus: and when I saw her, I wondered with great admiration. %%% Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya okwewuunya kunene. 66REV017.007 And the angel said unto me, Wherefore didst thou marvel? I will tell thee the mystery of the woman, and of the beast that carrieth her, which hath the seven heads and ten horns. %%% Malayika n'aŋŋamba nti Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi. 66REV017.008 The beast that thou sawest was, and is not; and shall ascend out of the bottomless pit, and go into perdition: and they that dwell on the earth shall wonder, whose names were not written in the book of life from the foundation of the world, when they behold the beast that was, and is not, and yet is. %%% Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abatuula ku nsi balyewuunya, abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo ky'obulamu kasookedde ensi eteekebwawo, bwe baliraba ensolo nga yaliwo era nga tekyaliwo ate eribaawo. 66REV017.009 And here is the mind which hath wisdom. The seven heads are seven mountains, on which the woman sitteth. %%% Awo we wali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko; 66REV017.010 And there are seven kings: five are fallen, and one is, and the other is not yet come; and when he cometh, he must continue a short space. %%% era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono. 66REV017.011 And the beast that was, and is not, even he is the eighth, and is of the seven, and goeth into perdition. %%% N'ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w'omunaana, naye ye w'oku musanvu, era agenda mu kubula. 66REV017.012 And the ten horns which thou sawest are ten kings, which have received no kingdom as yet; but receive power as kings one hour with the beast. %%% N'amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu. 66REV017.013 These have one mind, and shall give their power and strength unto the beast. %%% Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n'obuyinza. 66REV017.014 These shall make war with the Lamb, and the Lamb shall overcome them: for he is Lord of lords, and King of kings: and they that are with him are called, and chosen, and faithful. %%% Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana gw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa. N'aŋŋamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi. 66REV017.015 And he saith unto me, The waters which thou sawest, where the whore sitteth, are peoples, and multitudes, and nations, and tongues. %%% N'aŋŋamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi. 66REV017.016 And the ten horns which thou sawest upon the beast, these shall hate the whore, and shall make her desolate and naked, and shall eat her flesh, and burn her with fire. %%% N'amayembe ekkumi ge walabye, n'ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro. 66REV017.017 For God hath put in their hearts to fulfil his will, and to agree, and give their kingdom unto the beast, until the words of God shall be fulfilled. %%% Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa, n'okuteesa awamu, n'okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira. 66REV017.018 And the woman which thou sawest is that great city, which reigneth over the kings of the earth. %%% N'omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bakabaka b'ensi. 66REV018.001 And after these things I saw another angel come down from heaven, having great power; and the earth was lightened with his glory. %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'emulisibwa ekitiibwa kye. 66REV018.002 And he cried mightily with a strong voice, saying, Babylon the great is fallen, is fallen, and is become the habitation of devils, and the hold of every foul spirit, and a cage of every unclean and hateful bird. %%% N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa. 66REV018.003 For all nations have drunk of the wine of the wrath of her fornication, and the kings of the earth have committed fornication with her, and the merchants of the earth are waxed rich through the abundance of her delicacies. %%% Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b'ensi ne bayenda naye, n'abatunzi b'ensi ne bagaggawala olw'amaanyi g'obukaba bwe. 66REV018.004 And I heard another voice from heaven, saying, Come out of her, my people, that ye be not partakers of her sins, and that ye receive not of her plagues. %%% Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 66REV018.005 For her sins have reached unto heaven, and God hath remembered her iniquities. %%% kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. 66REV018.006 Reward her even as she rewarded you, and double unto her double according to her works: in the cup which she hath filled fill to her double. %%% Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng'ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 66REV018.007 How much she hath glorified herself, and lived deliciously, so much torment and sorrow give her: for she saith in her heart, I sit a queen, and am no widow, and shall see no sorrow. %%% Nga bwe yeegulumiza n'akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n'akatono. 66REV018.008 Therefore shall her plagues come in one day, death, and mourning, and famine; and she shall be utterly burned with fire: for strong is the Lord God who judgeth her. %%% Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'ennaku, n'enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 66REV018.009 And the kings of the earth, who have committed fornication and lived deliciously with her, shall bewail her, and lament for her, when they shall see the smoke of her burning, %%% Era bakabaka b'ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw'okwokebwa kwe, 66REV018.010 Standing afar off for the fear of her torment, saying, Alas, alas that great city Babylon, that mighty city! for in one hour is thy judgment come. %%% nga bayimiridde wala olw'entiisa ey'okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky'amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse. 66REV018.011 And the merchants of the earth shall weep and mourn over her; for no man buyeth their merchandise any more: %%% N'abatunzi ab'omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe; 66REV018.012 The merchandise of gold, and silver, and precious stones, and of pearls, and fine linen, and purple, and silk, and scarlet, and all thyine wood, and all manner vessels of ivory, and all manner vessels of most precious wood, and of brass, and iron, and marble, %%% obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n'olugoye olw'effulungu, ne aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli muti ogw'omugavu, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo omungi ennyo, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'ejjinja eddungi; 66REV018.013 And cinnamon, and odours, and ointments, and frankincense, and wine, and oil, and fine flour, and wheat, and beasts, and sheep, and horses, and chariots, and slaves, and souls of men. %%% n'eky'akaloosa, n'ebinzaali, n'obubaane, n'omuzigo gw'omugavu, n'envumbo, n'omwenge, n'amafuta, n'obutta obulungi, n'eŋŋaano, n'ente n'endiga; n'obuguzi bw'embalaasi n'amagaali n'abaddu; n'emyoyo gy'abantu. 66REV018.014 And the fruits that thy soul lusted after are departed from thee, and all things which were dainty and goodly are departed from thee, and thou shalt find them no more at all. %%% N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n'ebintu byonna ebiwooma n'ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 66REV018.015 The merchants of these things, which were made rich by her, shall stand afar off for the fear of her torment, weeping and wailing, %%% Abatunzi b'ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw'entiisa y'okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 66REV018.016 And saying, Alas, alas, that great city, that was clothed in fine linen, and purple, and scarlet, and decked with gold, and precious stones, and pearls! %%% nga boogera nti Zikisanze; zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo ne luulu! 66REV018.017 For in one hour so great riches is come to nought. And every shipmaster, and all the company in ships, and sailors, and as many as trade by sea, stood afar off, %%% kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n'abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy'omu nnyanja, ne bayimirira wala, 66REV018.018 And cried when they saw the smoke of her burning, saying, What city is like unto this great city! %%% ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw'okwokebwa kwe, nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng'ekibuga ekinene? 66REV018.019 And they cast dust on their heads, and cried, weeping and wailing, saying, Alas, alas, that great city, wherein were made rich all that had ships in the sea by reason of her costliness! for in one hour is she made desolate. %%% Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw'omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 66REV018.020 Rejoice over her, thou heaven, and ye holy apostles and prophets; for God hath avenged you on her. %%% Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe. 66REV018.021 And a mighty angel took up a stone like a great millstone, and cast it into the sea, saying, Thus with violence shall that great city Babylon be thrown down, and shall be found no more at all. %%% Malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja ddene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n'okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 66REV018.022 And the voice of harpers, and musicians, and of pipers, and trumpeters, shall be heard no more at all in thee; and no craftsman, of whatsoever craft he be, shall be found any more in thee; and the sound of a millstone shall be heard no more at all in thee; %%% Newakubadde eddoboozi ly'abakubi b'ennanga n'abalina ebivuga n'abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w'emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'olubengo teririwulirwa nate mu ggwe; 66REV018.023 And the light of a candle shall shine no more at all in thee; and the voice of the bridegroom and of the bride shall be heard no more at all in thee: for thy merchants were the great men of the earth; for by thy sorceries were all nations deceived. %%% newakubadde okutangaala kw'ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi be baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. 66REV018.024 And in her was found the blood of prophets, and of saints, and of all that were slain upon the earth. %%% Era n'omusaayi gwa bannabbi n'abatukuvu n'ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye. 66REV019.001 And after these things I heard a great voice of much people in heaven, saying, Alleluia; Salvation, and glory, and honour, and power, unto the Lord our God: %%% Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu, n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe: 66REV019.002 For true and righteous are his judgments: for he hath judged the great whore, which did corrupt the earth with her fornication, and hath avenged the blood of his servants at her hand. %%% kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be mu mukono gw'oyo. 66REV019.003 And again they said, Alleluia. And her smoke rose up for ever and ever. %%% Omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Aleruuya. N'omukka gwe gunyooka emirembe n'emirembe. 66REV019.004 And the four and twenty elders and the four beasts fell down and worshipped God that sat on the throne, saying, Amen; Alleluia. %%% N'abakadde amakumi abiri mu bana n'ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya. 66REV019.005 And a voice came out of the throne, saying, Praise our God, all ye his servants, and ye that fear him, both small and great. %%% N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu. 66REV019.006 And I heard as it were the voice of a great multitude, and as the voice of many waters, and as the voice of mighty thunderings, saying, Alleluia: for the Lord God omnipotent reigneth. %%% Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga. 66REV019.007 Let us be glad and rejoice, and give honour to him: for the marriage of the Lamb is come, and his wife hath made herself ready. %%% Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese. 66REV019.008 And to her was granted that she should be arrayed in fine linen, clean and white: for the fine linen is the righteousness of saints. %%% N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby'obutuukirivu eby'abatukuvu. 66REV019.009 And he saith unto me, Write, Blessed are they which are called unto the marriage supper of the Lamb. And he saith unto me, These are the true sayings of God. %%% N'aŋŋamba nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'endiga. N'aŋŋamba nti Ebyo bye bigambo eby'amazima ebya Katonda. 66REV019.010 And I fell at his feet to worship him. And he said unto me, See thou do it not: I am thy fellowservant, and of thy brethren that have the testimony of Jesus: worship God: for the testimony of Jesus is the spirit of prophecy. %%% Ne nvuunama mu maaso g'ebigere bye okumusinza. N’aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: Ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi. 66REV019.011 And I saw heaven opened, and behold a white horse; and he that sat upon him was called Faithful and True, and in righteousness he doth judge and make war. %%% Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 66REV019.012 His eyes were as a flame of fire, and on his head were many crowns; and he had a name written, that no man knew, but he himself. %%% Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka. 66REV019.013 And he was clothed with a vesture dipped in blood: and his name is called The Word of God. %%% Era ng'ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 66REV019.014 And the armies which were in heaven followed him upon white horses, clothed in fine linen, white and clean. %%% N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 66REV019.015 And out of his mouth goeth a sharp sword, that with it he should smite the nations: and he shall rule them with a rod of iron: and he treadeth the winepress of the fierceness and wrath of Almighty God. %%% Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna. 66REV019.016 And he hath on his vesture and on his thigh a name written, KING OF KINGS, AND LORD OF LORDS. %%% Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI. 66REV019.017 And I saw an angel standing in the sun; and he cried with a loud voice, saying to all the fowls that fly in the midst of heaven, Come and gather yourselves together unto the supper of the great God; %%% Ne ndaba malayika ng'ayimiride mu njuba; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 66REV019.018 That ye may eat the flesh of kings, and the flesh of captains, and the flesh of mighty men, and the flesh of horses, and of them that sit on them, and the flesh of all men, both free and bond, both small and great. %%% mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab’amaanyi, n'ennyama ey'embalaasi n’ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, abato n'abakulu. 66REV019.019 And I saw the beast, and the kings of the earth, and their armies, gathered together to make war against him that sat on the horse, and against his army. %%% Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n'eggye lyabwe nga bakuŋŋaanye okulwana n'oyo eyali atudde ku mbalaasi n'eggye lye. 66REV019.020 And the beast was taken, and with him the false prophet that wrought miracles before him, with which he deceived them that had received the mark of the beast, and them that worshipped his image. These both were cast alive into a lake of fire burning with brimstone. %%% Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y'ensolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti: 66REV019.021 And the remnant were slain with the sword of him that sat upon the horse, which sword proceeded out of his mouth: and all the fowls were filled with their flesh. %%% n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe. 66REV020.001 And I saw an angel come down from heaven, having the key of the bottomless pit and a great chain in his hand. %%% Ne ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe. 66REV020.002 And he laid hold on the dragon, that old serpent, which is the Devil, and Satan, and bound him a thousand years, %%% N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi, 66REV020.003 And cast him into the bottomless pit, and shut him up, and set a seal upon him, that he should deceive the nations no more, till the thousand years should be fulfilled: and after that he must be loosed a little season. %%% n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono. 66REV020.004 And I saw thrones, and they sat upon them, and judgment was given unto them: and I saw the souls of them that were beheaded for the witness of Jesus, and for the word of God, and which had not worshipped the beast, neither his image, neither had received his mark upon their foreheads, or in their hands; and they lived and reigned with Christ a thousand years. %%% Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okutegeeza kwa Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza nkovu ku kyenyi kyabwe ne ku mukono gwabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukumi. 66REV020.005 But the rest of the dead lived not again until the thousand years were finished. This is the first resurrection. %%% Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye. 66REV020.006 Blessed and holy is he that hath part in the first resurrection: on such the second death hath no power, but they shall be priests of God and of Christ, and shall reign with him a thousand years. %%% Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi. 66REV020.007 And when the thousand years are expired, Satan shall be loosed out of his prison, %%% Awo, emyaka egyo olukumi bwe giriggwa, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera lye, 66REV020.008 And shall go out to deceive the nations which are in the four quarters of the earth, Gog and Magog, to gather them together to battle: the number of whom is as the sand of the sea. %%% era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'ennyanja. 66REV020.009 And they went up on the breadth of the earth, and compassed the camp of the saints about, and the beloved city: and fire came down from God out of heaven, and devoured them. %%% Ne balinnya ku bugazi bw'ensi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya. 66REV020.010 And the devil that deceived them was cast into the lake of fire and brimstone, where the beast and the false prophet are, and shall be tormented day and night for ever and ever. %%% N'omulyolyomi eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabbi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe. 66REV020.011 And I saw a great white throne, and him that sat on it, from whose face the earth and the heaven fled away; and there was found no place for them. %%% Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; n'ekifo kyabyo tekyalabika. 66REV020.012 And I saw the dead, small and great, stand before God; and the books were opened: and another book was opened, which is the book of life: and the dead were judged out of those things which were written in the books, according to their works. %%% Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali. 66REV020.013 And the sea gave up the dead which were in it; and death and hell delivered up the dead which were in them: and they were judged every man according to their works. %%% N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali. 66REV020.014 And death and hell were cast into the lake of fire. This is the second death. %%% N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Eyo kwe kufa okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro. 66REV020.015 And whosoever was not found written in the book of life was cast into the lake of fire. %%% Era omuntu yenna ataalabika ng'awandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. 66REV021.001 And I saw a new heaven and a new earth: for the first heaven and the first earth were passed away; and there was no more sea. %%% Ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi ey'olubereberye nga bigenze: n'ennyanja nga tekyaliwo. 66REV021.002 And I John saw the holy city, new Jerusalem, coming down from God out of heaven, prepared as a bride adorned for her husband. %%% Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba. 66REV021.003 And I heard a great voice out of heaven saying, Behold, the tabernacle of God is with men, and he will dwell with them, and they shall be his people, and God himself shall be with them, and be their God. %%% Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: 66REV021.004 And God shall wipe away all tears from their eyes; and there shall be no more death, neither sorrow, nor crying, neither shall there be any more pain: for the former things are passed away. %%% naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo. 66REV021.005 And he that sat upon the throne said, Behold, I make all things new. And he said unto me, Write: for these words are true and faithful. %%% N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N'ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima. 66REV021.006 And he said unto me, It is done. I am Alpha and Omega, the beginning and the end. I will give unto him that is athirst of the fountain of the water of life freely. %%% N'aŋŋamba nti Bituukiridde. Nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu buwa. 66REV021.007 He that overcometh shall inherit all things; and I will be his God, and he shall be my son. %%% Awangula alisikira ebyo: nange nnaabeeranga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. 66REV021.008 But the fearful, and unbelieving, and the abominable, and murderers, and whoremongers, and sorcerers, and idolaters, and all liars, shall have their part in the lake which burneth with fire and brimstone: which is the second death. %%% Naye abati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n’abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro n'ekibiriiti; kwe kufa okw'okubiri. 66REV021.009 And there came unto me one of the seven angels which had the seven vials full of the seven last plagues, and talked with me, saying, Come hither, I will shew thee the bride, the Lamb's wife. %%% Ne wajja omu ow'oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero; n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w'Omwana gw'endiga. 66REV021.010 And he carried me away in the spirit to a great and high mountain, and shewed me that great city, the holy Jerusalem, descending out of heaven from God, %%% N'antwala mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, 66REV021.011 Having the glory of God: and her light was like unto a stone most precious, even like a jasper stone, clear as crystal; %%% nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo ng'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, ng'ejjinja yasepi, eritangalijja: 66REV021.012 And had a wall great and high, and had twelve gates, and at the gates twelve angels, and names written thereon, which are the names of the twelve tribes of the children of Israel: %%% nga kirina bbugwe omunene omuwanvu: nga kirina emiryango kkumi n'ebiri, ne ku miryango bamalayika kkumi na babiri; n'amannya agawandiikiddwako, ge g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Isiraeri: 66REV021.013 On the east three gates; on the north three gates; on the south three gates; and on the west three gates. %%% ebuvanjuba emiryango esatu; era obukiika obwa kkono emiryango esatu; era obukiika obwa ddyo emiryango esatu; era ebugwanjuba emiryango esatu. 66REV021.014 And the wall of the city had twelve foundations, and in them the names of the twelve apostles of the Lamb. %%% Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri, ne kubaako amannya kkumi n'abiri ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga. 66REV021.015 And he that talked with me had a golden reed to measure the city, and the gates thereof, and the wall thereof. %%% Naye eyayogera nange yalina ekigera olumuli olwa zaabu okugera ekibuga, n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo. 66REV021.016 And the city lieth foursquare, and the length is as large as the breadth: and he measured the city with the reed, twelve thousand furlongs. The length and the breadth and the height of it are equal. %%% N'ekibuga kyenkanyankanyizibwa enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo buli ng'obugazi, n'agera ekibuga n'olumuli, amabanga kakumi mu enkumi bbiri: obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo bwenkanankana. 66REV021.017 And he measured the wall thereof, an hundred and forty and four cubits, according to the measure of a man, that is, of the angel. %%% N'agera bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mu ena, ekigera ky'omuntu, kye kya malayika. 66REV021.018 And the building of the wall of it was of jasper: and the city was pure gold, like unto clear glass. %%% N'okuzimbibwa kwa bbugwe waakyo kwa yasepi: n'ekibuga kya zaabu ennungi, ng'endabirwamu ennungi. 66REV021.019 And the foundations of the wall of the city were garnished with all manner of precious stones. The first foundation was jasper; the second, sapphire; the third, a chalcedony; the fourth, an emerald; %%% Emisingi gya bbugwe w'ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogw'olubereberye yasepi; ogw'okubiri safiro; ogw'okusatu kalukedoni; ogw'okuna lya nnawandagala; 66REV021.020 The fifth, sardonyx; the sixth, sardius; the seventh, chrysolyte; the eighth, beryl; the ninth, a topaz; the tenth, a chrysoprasus; the eleventh, a jacinth; the twelfth, an amethyst. %%% ogw'okutaano sadonukisi; ogw'omukaaga sadiyo; ogw'omusanvu kerusoliso; ogw'omunaana berulo; ogw'omwenda topazi; ogw'ekkumi kerusoperaso; ogw'ekkumi n'ogumu kuwakinso; ogw'ekkumi n'ebiri amesusito. 66REV021.021 And the twelve gates were twelve pearls: every several gate was of one pearl: and the street of the city was pure gold, as it were transparent glass. %%% N'emiryango ekkumi n'ebiri luulu kkumi na bbiri, buli gumu ku miryango gwali gwa luulu emu: n'oluguudo olw'ekibuga zaabu ennungi, ng'endabirwamu etangalijja. 66REV021.022 And I saw no temple therein: for the Lord God Almighty and the Lamb are the temple of it. %%% So ssaalabamu yeekaalu mu kyo: kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye yeekaalu yaakyo. 66REV021.023 And the city had no need of the sun, neither of the moon, to shine in it: for the glory of God did lighten it, and the Lamb is the light thereof. %%% So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n'ettabaaza yaakyo ye Mwana gw'endiga. 66REV021.024 And the nations of them which are saved shall walk in the light of it: and the kings of the earth do bring their glory and honour into it. %%% N'amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b'ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 66REV021.025 And the gates of it shall not be shut at all by day: for there shall be no night there. %%% N'emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono emisana (kubanga eyo ekiro tekiibengayo); 66REV021.026 And they shall bring the glory and honour of the nations into it. %%% era balireeta ekitiibwa n'ettendo ery'amawanga mu kyo: 66REV021.027 And there shall in no wise enter into it any thing that defileth, neither whatsoever worketh abomination, or maketh a lie: but they which are written in the Lamb's book of life. %%% so temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky'omuzizo n'obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'endiga. 66REV022.001 And he shewed me a pure river of water of life, clear as crystal, proceeding out of the throne of God and of the Lamb. %%% Yandaga omugga ogw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga, 66REV022.002 In the midst of the street of it, and on either side of the river, was there the tree of life, which bare twelve manner of fruits, and yielded her fruit every month: and the leaves of the tree were for the healing of the nations. %%% wakati w'oluguudo lwakyo. Era eruuyi n'eruuyi ew'omugga omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala ekkumi n'ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n'amalagala g'omuti ga kuwonya amawanga. 66REV022.003 And there shall be no more curse: but the throne of God and of the Lamb shall be in it; and his servants shall serve him: %%% So teribaayo nate kikolimo: n'entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo: n'abaddu be banaamuweerezanga, 66REV022.004 And they shall see his face; and his name shall be in their foreheads. %%% era banaamulabanga amaaso ge; era erinnya lye linaabanga mu byenyi byabwe. 66REV022.005 And there shall be no night there; and they need no candle, neither light of the sun; for the Lord God giveth them light: and they shall reign for ever and ever. %%% So teebenga kiro nate; so tebeetaaga kumulisa kwa ttabaaza n'omusana gw'enjuba; kubanga Mukama Katonda anaabawanga omusana: era banaafuganga emirembe n'emirembe. 66REV022.006 And he said unto me, These sayings are faithful and true: and the Lord God of the holy prophets sent his angel to shew unto his servants the things which must shortly be done. %%% N'aŋŋamba nti Ebigambo bino bya bwesige era bya mazima: era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi yatuma malayika we okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu. 66REV022.007 Behold, I come quickly: blessed is he that keepeth the sayings of the prophecy of this book. %%% Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino. 66REV022.008 And I John saw these things, and heard them. And when I had heard and seen, I fell down to worship before the feet of the angel which shewed me these things. %%% Nange Yokaana nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne nvuunama okusinza mu maaso g'ebigere bya malayika andaga bino. 66REV022.009 Then saith he unto me, See thou do it not: for I am thy fellowservant, and of thy brethren the prophets, and of them which keep the sayings of this book: worship God. %%% N'aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: ndi muddu munno era ow'omu baganda bo bannabbi, n'abo abakwata ebigambo eby'ekitabo kino: sinza Katonda. 66REV022.010 And he saith unto me, Seal not the sayings of the prophecy of this book: for the time is at hand. %%% N'aŋŋamba nti Toteeka kabonero ku bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino; kubanga obudde buli kumpi. 66REV022.011 He that is unjust, let him be unjust still: and he which is filthy, let him be filthy still: and he that is righteous, let him be righteous still: and he that is holy, let him be holy still. %%% Ayonoona abeere ng'akyayonoona: era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa: era n'omutuukirivu, abeere ng'akyakola obutuukirivu: era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu. 66REV022.012 And, behold, I come quickly; and my reward is with me, to give every man according as his work shall be. %%% Laba, njija mangu; n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. 66REV022.013 I am Alpha and Omega, the beginning and the end, the first and the last. %%% Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'enkomerero. 66REV022.014 Blessed are they that do his commandments, that they may have right to the tree of life, and may enter in through the gates into the city. %%% Baweereddwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango. 66REV022.015 For without are dogs, and sorcerers, and whoremongers, and murderers, and idolaters, and whosoever loveth and maketh a lie. %%% Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, na buli ayagala n'akola obulimba. 66REV022.016 I Jesus have sent mine angel to testify unto you these things in the churches. I am the root and the offspring of David, and the bright and morning star. %%% Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw'ekkanisa. Nze ndi kikolo era omuzukkulu wa Dawudi, emmunyeenye eyaka ey'enkya. 66REV022.017 And the Spirit and the bride say, Come. And let him that heareth say, Come. And let him that is athirst come. And whosoever will, let him take the water of life freely. %%% Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa. 66REV022.018 For I testify unto every man that heareth the words of the prophecy of this book, If any man shall add unto these things, God shall add unto him the plagues that are written in this book: %%% Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino: 66REV022.019 And if any man shall take away from the words of the book of this prophecy, God shall take away his part out of the book of life, and out of the holy city, and from the things which are written in this book. %%% era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 66REV022.020 He which testifieth these things saith, Surely I come quickly. Amen. Even so, come, Lord Jesus. %%% Ategeeza bino ayogera nti Weewaawo: njija mangu. Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu. 66REV022.021 The grace of our Lord Jesus Christ be with you all. Amen. %%% Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n'abatukuvu Amiina.