The Good Message ##OBUBAKA OBULUNGI Chapter I ## ESSUULA I 001 'Abdu'l-Bahá, Son of Bahá'u'lláh, said: ## 'Abdu'l-Bahá, Mutabani wa Bahá'u'lláh, yagamba bwati: The Great One Who all men in all places are waiting for has come ## Oweekitiibwa Ennyo Oyo abantu bonna mu bifo byonna gwe balindirira azze all men are looking for a truth from on high ## abantu bonna banoonya amazima okuva waggulu and Bahá'u'lláh is the Great Truth-Bringer, the Great Teacher. ## era Bahá'u'lláh Ye Mukongozzi w'Amazima Omukulu, Omuyigiriza ow'Amaanyi Ennyo." 002 Let us look back over the past of our people. ## Kati katutunuulire ebiseera ebyayita eby'abantu baffe. We have had great men and great chiefs. ## Tubadde n'abantu era awamu n'abafuzi ab'amaanyi. When a great man lives he is good for his people. ## Omuntu ow'amaanyi mu bulamu bwe abeera wa mugaso eri abantu be. He makes them better. ## Abafuula abantu abalungi. He sees further than they can see. ## Alengera wala okusinga bo gye basobola okulengera. He is like a man who goes up on the highest hill ## Afaanana n'omuntu oyo alinnya waggulu ku ntikko y'olusozi olusinga zonna obuwanvu and then sees further than the others lower down. ## era n'alengera ebyo ebiri ewala ennyo okusinga abo ababeera wansi w'olusozi olwo bye basobola okulengera. Where would we be if we had no such men to tell us new things? ## Twandibadde wa ffe singa tetwalina bantu ng'abo abasobola okutubuulira ku bintu ebipya? It is men like these who make us all greater and better men. ## Abantu ab'engeri eno be batusobozesa naffe okufuuka abantu ab'amaanyi era abalungi okusinga nga bwe tubadde. One great man is worth ten thousand men, nay ten times ten thousand ## Omuntu omu ow'amaanyi yenkanankana n'omutwalo gumu ogw'abantu, weewaawo, mu butuufu ajaamu abantu kkumi mitwalo na mitwalo for he leads other men to be better and have more wisdom. ## kubanga akulembera abantu n’abafuula abalungi okusinga bwe babadde era ne beeyongera okubeera abantu ab’amagezi amangi. 003 A great doctor helps his people fight off disease; ## Omusawo omulungi ayamba abantu be okulwanyisa n’okwegobako endwadde; a great chief leads his people to victory; ## omufuzi omulungi akulembera abantu be n'abatuusa ku buwanguzi; a great talker says words of wisdom that generations remember. ## omwogezi omulungi ayogera ebigambo eby'amagezi ebigenda okujukirwanga emirembe gyonna. But the best man is the Great Man who is the Prophet of God ## Naye omuntu asingira ddala obulungi y’Oyo ow’Amaanyi, nga ye Nnabbi wa Katonda and tells men of the life after death ## abuulira abantu ku bulamu obugenda okujja oluvannyuma lw'okufa so they may no more be afraid. ## bwebatyo baleme okutya nate. He is the man whose eyes see all, ## Ye muntu alina amaaso agalaba byonna what is plain and what is hidden. ## ebirabika n’ebyo ebikusuke. 004 Amongst our people long ago, our fathers tell us, there were such Men ## Bakitaffe batugamba nti wakati mu bantu baffe ab’edda ennyo, waaliyo Abantu ab'engeri eyo, and in other lands and across the sea where other people live ## era ne mu bitundu ebirala emitala w'ennyanja abantu abalala gye baabeeranga they have also had these All-Seeing Men. ## nayo baalina Abantu Abalaba Byonna nga bano. One of the greatest of these Men was Jesus Christ Who leads all the Christians. ## Omu ku basingira ddala obukulu mu bantu bano ye Yesu Kristo, Akulembera Abakulisitaayo bonna. Another is called Muhammad Who leads all the followers of Islam ## Omulala ye Muhammed, akulembera abagoberezi bonna ab'Eddiini y’Ekiyiisiraamu, and far away in the lands where the sun rises ## era ne mu bitundu ebiri ewala eyo ebuvanjuba are people who follow an All-Seeing Man Who was called Buddha. ## nayo waaliyo abantu abagoberera Omuntu-Alaba Byonna ayitibwa Buddha. There have been many others. ## Wabaddewo n'abalala bangi. God has given men in every land a guide like these who stood on the high place inside their own spirit ## Katonda awadde abantu aba buli kitundu Omuluŋŋamya okufaanana nga bano abaayimirira mu bifo ebigulumivu mu myoyo gyabwe and looked further and saw more than other men, ## ne balengera ewala okusinga ku bannaabwe ne balaba bingi okusinga ku bantu abalala, even more than the ordinary leaders of religion, ## n'okusinga abakulembeze b'eddiini aba bulijjo, even more than the chiefs. ## n’okusinga abafuzi b’ebitundu. For these Greatest-of-All-Men talk with God Himself ## Kubanga Bano-Abantu-Abasinga-Abalala Bonna boogera ne Katonda Mwene and then tell other men about Him ## olwo ne batanula okubuulira abantu ebifa ku Ye, and they tell other men with a true voice what is God's Will for them. ## era ne bababuulira mu ddoboozi lyennyini ery'amazima Katonda Ye by’ayagala bakole. Such Men who told other men of the Will of God ## Abantu ab'ekikula ekyo, abategeeza abantu Okwagala kwa Katonda, have lived in different lands at different times ## babadde mu bitundu ebitali bimu mu biseera ebyenjawulo, and changed the hearts and the ways of their people. ## ne bakyusa emitima n'embeera z'abantu baabwe. 005 Let us say the people of the world are like a tree. ## Katugambe nti abantu ab’omu nsi balinga omuti. When the tree is young it has few fruits and little shade. ## Omuti bwe gubeera omuto gubala ebibala bitono era gubeera n’ekisiikirize kitono. As the tree gets older it gives more fruit and more shade. ##Naye bwe gugenda nga gweyongera okukula gweyongera okubala ebibala era n'ekisiikirize kyagwo nakyo kyeyongera obunene. When the tree reaches full maturity it gives a great lot of fruit ## Omuti guno bwe gukulira ddala gubala ebibala bingi nnyo, and covers a village with its shade. era n’ekisiikirize kyagwo kibuutikira ekyalo. The fruit of the tree of men are the Prophets or Messengers of God. ## Ebibala by'omuti gw'abantu be Banabbi oba Ababaka ba Katonda. These men are not like the rest of the tree ## Abantu bano tebafaanana ng’ebitundu by’omuti ebirala as the fruit is not like any other part of a tree. ## ng’ebibala bwe bitafaanana kitundu kirala kyonna eky'omuti. It grows on the tree but it is different. ## Ebibala bikulira ku muti naye byo bibeera bya njawulo. So are these Greatest-of-All-Men different as Jesus Christ was different. ## Mu ngeri yemu ne Bano-Abantu-Abasukkulumu ku bannaabwe banjawulo nga ne Yesu Kristo bwe yali ow'enjawulo. All these Great Men wherever They lived have spoken words alike ## Abantu bano Abasukkulumu mu bitundu byonna Bo gye baabeeranga bayogedde bulijjo ebigambo ebifaanagana and have said: "What We tell you is not from Us but from God." ## nga bagamba nti: "Ffe bye tubabuulira tebiva mu Ffe wabula biva eri Katonda.” They have also each one promised His people ## Era buli omu ku Bo asuubizza abantu Be that a day would come when a Man of Their kind would come ## nti olunaku lumu lulituuka Omuntu ow’ekikula Kyabwe alijja and not only speak to one people or to one nation ## era nti taliyogera na bantu ba kikula kimu kyokka oba okwogera eri abantu ab'eggwanga erimu bokka, but to all people and to all nations. ## wabula eri abantu bonna era n’eri amawanga gonna. This Man would lead them to peace ## Omuntu ono alikulembera abantu abatuuse mu mirembe and all should be as brothers with one father, ## era bonna balibeera ng'abooluganda abalina kitaabwe omu, the oldest and the youngest, ## omukulu n’asinga obuto, the worst and the best together. ## asinga obuntubulamu n’eyeenyinyalwa bonna wamu. 006 This is the day this book tells of ## Luno lwe lunaku ekitabo kino kye lwogerako for it speaks of the Words of Bahá'u'lláh Who is the Messenger of God in this day. ## kubanga kyogera ku Bigambo bya Bahá'u'lláh Oyo Omubaka wa Katonda mu lunaku luno. 007 Today is a day of great change. ## Leero lwe lunaku olw'enkyukakyuka ssinziggu. Already in our grandfathers' and great-grandfathers' days the ways of the world began to change. ## Enkyukakyuka zatandika dda okubaawo mu nsi okuviira ddala mu biseera bya bajjajjaffe ne bajjajja ba bajjajjaffe ab'edda. Travellers from far lands came to us ## Abatambuze b’eŋŋendo abaava mu bitundu eby'ewala eyo, with strange ways and ideas unlike ours, ## bajja gyetuli n'empisa engwira era n'ebirowoozo ebyali tebifaanana na byaffe, often unkind ways and ideas. ## enfunda nnyingi ng’empisa zaabwe n'ebirowoozo byabwe byalinga bya ttima. But we came to see the world was much bigger than we knew, ## Naye nno twamala ne tukizuula nti ensi yali nnene nnyo okusinga bwe twaali tugimanyi, many people, many nations, many languages, many beliefs. ## ng’erimu abantu bangi, amawanga mangi, ennimi nnyingi, n'enzikiriza nnyingi. This made our lives change also ## Kino nakyo kyatuwaliriza okukyusa obulamu bwaffe and the old ways, both good and bad, ## n’embeera zaffe ez'edda, ennungi n'embi, began to die and be forgotten. ## era byatandika okugenda nga biggwawo, era ne byelabirwa. If our people have seen in four or five generations so much change, ## Oba ng’abantu baffe balabye enkyukakyuka ennyingi bwezityo mu mirembe ena oba etaano, the foreign people have seen even more ## abagwira bo balabye enkyukakyuka ezisingako because their lands are larger than ours ## kubanga ebitundu byabwe binene okusinga ku byaffe, and their people more numerous. ## era n'abantu baabwe bangi okusinga ku baffe. As we do not know their lands and their ways ## Kubanga tetumanyi bitundu byabwe n’embeera zaabwe, we cannot judge of how great their change has been ## tetuyinza kulamula ku ngeri enkyukakyuka mu bo nga bw’ebadde, but it has been greater than ours. ## naye ebadde z’amaanyi okusinga ku zaffe. Their wise men say all the bad things in their ways have risen up ## Abasajja abagezigezi baabwe bagamba nti ebintu byonna ebibi mu mbeera zaabwe bigenze bitutumuseeyo and try to destroy the good things ## era bigezaako n’okwonoona ebintu ebirungi byonna, and this is worse than ever before. ## era nga kino kati kibi nnyo n'okusinga bwe kyali kibadde. Men's hearts are black and their minds clouded. ## Emitima gy'abantu gijjudde enziro, n’emmeeme zaabwe zikyafuwadde. They fight each other with more terrible weapons than ever before. ## Balwanagana bokka na bokka nga bakozesa eby'okulwanyisa eby'obulabe ennyo okusinga ebyo byebaakozesanga mu biseera eby'edda. Their youth are wild and unhappy, ## Abavubuka baabwe bajeemu era si basanyufu, their mothers and fathers bitter and confused. ## bannyaabwe ne ba kitaabwe banyiikaavu era basobeddwa. They are afraid and they do wrong to try to forget they are afraid. Bali mu kutya, era bakola ebikyaamu nga bagezaako okwerabira nti bali mu kutya. But those who have found Bahá'u'lláh say: ## Naye abo abamaze okuzuula Bahá'u'lláh bagamba nti: "Do you not see? The darkest time of the night is before the sun rises?" ## "Temukitegeera? Ekiseera ekisingira ddala okubeera eky'ekizikiza mu budde obw'ekiro kibeerawo nga enjuba tennavaayo?" So the great darkness in the world these last four or five generations ## Noolwekyo ekiseera ekyasingira ddala okubeera ekya kazigizigi mu nsi yonna mu mirembe ena oba etaano egiyise, was the end of the night before the new day came. ## ky'ekyo ekyakomekkereza ekiro ekyasembayo ng’olunaku olupya terunnatuuka. Now it has dawned and it is the day Bahá'u'lláh has brought ## Kaakano olunaku olwo lutuuse, era lwe lunaku Ye Bahá'u'lláh lw’aleese because He is the Messenger of God for this day. ## kubanga Ono ye Mubaka wa Katonda ow’olunaku luno. 008 What is a Prophet? ## Nnabbi kye kki? He is like the sun that brings light to the world ## Nnabbi afaanana ng’enjuba ereeta ekitangaala ku nsi only He lights up men's spirits and minds. ## naye nga Ye atangaaza emyoyo gy'abantu n'emmeeme zaabwe. The sun warms the earth and makes things grow. ## Enjuba ebugumya ensi era n'esobozesa ebintu okukula. The words of these Greatest-of-All-Men are like sunlight ## Ebigambo by'Abantu-Abasingira-ddala-Abantu-bonna Obukulu, bifaanana ng'omusana and warm men's hearts and minds ## era bibugumya emitima gy'abantu n'emmeeme zaabwe teaching them to be wiser and better. ## nga bibayigiriza okweyongera okubeera ab’amagezi era abalungi. The coming of such a Man is like the coming of springtime. ## Okujja okw'Omuntu ng'oyo kufaanana ng'okujja kw'ekiseera kya ttoggo. It wakes men up and makes them grow inside. ## Kuzuukuka abantu era ne kubasobozesa okukula mu mwoyo. 009/010 In the past it was as if there were many streams each flowing its own way, ## Mu biseera eby'edda kyalabikanga awaalingawo obugga obungi nga buli kamu kakulukuta kadda ku ludda lwako kokka, but now these small streams must unite ## naye kati ekiseera kituuse obugga obwo bwonna okwegatta and flow together to make one great river. ## awamu bukole omugga omunene ennyo. In the past it was as if there were many winds each blowing a different way, ## Mu biseera eby'edda, kyalabikanga awaalingawo embuyaga ez'emirundi emingi nga buli mbuyaga ekunta ng'eraga ku ludda lwayo ku bwayo, but now they must all unite ## naye kati embuyaga zonna zituusizza ekiseera we ziteekwa okwegatta and blow like one great trade-wind. ## zikunte ng'embuyaga ey'amaanyi ennyo ddala. This would give great power. ## Kino kyandiyinza okuvaamu amaanyi ag'ensusso. So, says Bahá'u'lláh, must be the thoughts of men in this new day. ## Bahá'u'lláh agamba nti bwebityo n'ebirowoozo by'abantu bwe bisaanidde okubeera ku lunaku luno olupya They must unite and become like a great river, a great wind. ## Basaanidde okwegatta awamu, babeere ng'omugga omunene ddala, oba ng’embuyaga ey'amaanyi ennyo. In the past each people lived by itself believing in its Prophet ## Mu biseera eby’edda, abantu ab’ekikula ekimu baabeeranga bokka nga bakkiririza mu Nnabbi waabwe and being afraid of other people ## era nga babeera mu kutya abantu abalala and often hurting them ## era n'enfunda nnyingi baabalumyanga, and capturing them and killing them. ## okubawamba wamu n’okubatta. Now, says Bahá'u'lláh, the world is grown small like one country, ## Bahá'u'lláh agamba nti kaakano ensi efunze n’efuuka ntono ddala ng'ensi emu, therefore let all men live in it as brothers ## noolwekyo abantu bonna basaanidde okugibeeramu ng’abooluganda abaagalana, and make war taboo. ## era n'entalo bazifuule eky’omuzizo. Let men ask to hear the truth. ## Basaanidde okubuuza bawulire amazima. Let men of different beliefs listen to each other. ## Abantu ab’enzikiriza ezenjawulo kibagwanidde buli omu okuwuliriza munne. Let the heart and the head go together. ## Omutwe n’omutima bisaanidde okusseekimu. Let each one forget his hatred of other people ## Buli omu asaanidde okwerabira obukyayi bw’alina eri abantu abalala because they have a different skin ## kubanga balina omubiri ogwa langi etali yaabwe or speak a different language or go to a different church. ## oba boogera olulimi olwenjawulo oba bagenda mu ssinzizo eritali lyabwe. Let there be the same justice for all men ## Wasaanidde okubaawo obwenkanya bwe bumu eri abantu bonna until in the end there is one great court ## okutuukira ddala ku nkomerero we wabeererawo kkooti enkulu emu to which peoples and nations can go for justice ## abantu bonna n’amawanga gonna gye bayinza okuddukira okufuna obwenkanya when they dispute among themselves. ## bwe bafuna obutakkaanya wakati waabwe. Let the women be treated fairly as men are treated. ## Kisaanidde abakazi okuyisibwa mu ngeri yemu ng’abasajja bwe bayisibwa. Let it be a law that every child learns and does not remain ignorant. ## Wasaana okubeerawo etteeka buli mwana ayiga aleme kusigala mu butamanya. Let all men learn one language ## Abantu bonna kibagwanidde okuyiga olulimi olumu so they can speak to each other freely ## kibasobozese okwogeraganya obulungi mu ddembe and know each other's minds and hearts. ## era bamanye ebiri mu birowoozo ne mu mitima gyabwe. 011 'Abdu'l-Bahá, son of Bahá'u'lláh, said: ## 011 'Abdu'l-Bahá, mutabani wa Bahá'u'lláh, yagamba nti: When Jesus Christ came into the world twenty centuries ago ## Mu kiseera Yesu Kristo mwe yajjira mu nsi, ebyasa amakumi abiri ebiyise, the Jewish people were weeping and praying that ## Abayudaaya baali balaajana n’okusaba their Messiah, their Promised One, should come to them. ## Masiya waabwe, Oyo Eyabasuubizibwa, ajje gye bali. Yet when Jesus Christ came and said 'I am your Messiah' ## Naye ate Yesu Kristo bwe yajja gye bali n'abagamba nti nze ‘Masiya wammwe’ they refused Him and hated Him and killed Him ## baamwegaana Ye era ne bamukyawa era ne bamutta and even called Him the evil one. ## era n’okumuyita ne bamuyita oyo ow’ekibi. All this is written in the Gospel. ## Bino byonna byawandiikibwa mu Njiri. The reason the Jews did this is because in their Book, the Torah, ## Ensonga eyavaako Abayudaaya okukola bwe batyo yali nti mu Kitabo kyabwe, ekiyitibwa ‘Ekyamateeka’ – Torah-, it was written that the Messiah would show certain signs ## kyawandiikibwa nti Masiya yalina obubonero bw'aliyolesa, and any man who does not show these signs ## era nti omuntu yenna atalisobola kwolesa bubonero obwo but claims to be the Messiah is a liar. ## naye ate n'agamba nti ye Masiya alibeera mulimba. And they said, 'One of the signs is that He will come from an unknown place, ## Era baagamba nti “Akamu ku bubonero buno kaali nti Omuntu Oyo agenda kuva mu kifo ekitamanyiddwa, yet we all know this man's house is in Nazareth, ## naye ate fenna tumanyi enyumba y'omusajja ono eri mu Nazaleesi, and can any good come from Nazareth? ## era waliwo ekirungi kyonna ekiyinza okuva e Nazaalesi? The second sign is that He shall rule with a rod of iron, ## Akabonero ak'okubiri kali nti Omuntu Ono alifuga n'omukono ogw'ekyuma, which means He must act with the sword, ## ekitegeeza nti ateekwa okukozesa ekitala, but this Messiah has not even a wooden staff. ## naye Masiya ono talina wadde omuggo. Another of the signs is that ## Akabonero akalala kali nti He will sit on the throne of David ## Omuntu Ono alituula ku nnamulondo ya Daudi and make David's name great, ## era alifuula erinnya lya Daudi ery'ekitiibwa, but this man sits on no throne ## naye ate omusajja ono talina nnamolondo ey’okuulako, and has not even a mat to sit on. ## era talina wadde omukeeka ogw'okutuulako. And another condition is that He shall make the laws of the Torah widespread ## Era akakwakkulizo akalala kali nti Omuntu Ono alisobozesa amateeka agali mu Kitabo Ekyamateeka- Torah- okubuna wonna, but this man has changed the laws ## naye omusajja ono akyusizza amateeka and broken the day of rest ## era n’amenya n’etteeka ery'olunaku olw'okuwummulirako, and so according to our laws he should be put to death. ## era noolwekyo okusinziira ku mateeka gaffe asaana kuttibwa. And another of the signs is that in the reign of the Messiah ## Era akalala ku bubonero buno kali nti mu kiseera Kye ng’atudde ku nnamulondo justice and good will be over all men, ## obwenkanya n'obulungi bulibuna mu bantu bonna, even the animals. ## nga muno mwe muli n’ensolo. The snake and the mouse will share one hole, ## Omusota n’emmese biribeera mu kinnya kye kimu, the eagle and the small bird one nest, ## empungu n'akannyonnyi akatono birigabana ekisu kimu, lion and the gazelle live in one place, ## empologoma n'omwana gw’embuzi biribeera mu kifo kyekimu, the wolf and the kid drink together. ## omusege n'omwana gw'embuzi binywera wamu amazzi mu ddembe. Another of the signs is that in the days of the Messiah ## Akalala ku bubonero buno kali nti mu nnaku za Masiya, the Jewish people shall be victorious and rule the world ## Abayudaya balibeera bawanguzi era balifuga ensi yonna, but instead we are lowly and ruled over by our masters the Romans. ## naye ate mukifo ky’ebyo byonna tunyoomebwa era tufugibwa bakama baffe Abaluumi. 012 With such words the Jewish people objected to Jesus Christ ## N'ebigambo eby'engeri eyo, Abayudaaya, baawakanya Yesu Kristo even though He was the One promised them in their Torah. ## newaakubadde nga Ye ye yali Oyo eyabasuubisizibwa mu kitabo kyabwe Ekyamateeka-Torah. As they could not understand the true meaning of the signs the Messiah was to show, ## Kubanga baali tebasobola kutegeera makulu amatuufu ag'obubonero Masiya bwe yalina okwolesa, they killed Him. ## bwebatyo baamutta. Those who believe Bahá'u'lláh is the Great Man for this day ## Abo abakkiriza nti Bahá'u'lláh y’Oyo Omuntu ow’Amaanyi ow’olunaku luno say that the signs promised were shown by Jesus Christ ## bagamba nti obubonero obwasuubizibwa bwayolesebwa Yesu but that the Jewish people were blind and foolish. ## naye Abayudaaya baali bazibe b’amaaso era abasirusiru. They expected to see all things with the eyes of their body ## Baali basuubira okulaba ebintu byonna n'amaaso gaabwe ag'omubiri but the signs were ones to be seen with the eyes of their spirit. ## so ng’ate obubonero obwo bwebwo obwali obw’okulabibwa n'amaaso gaabwe ag'omwoyo. The Jewish people said Jesus Christ did not reign as their chief, ## Abayudaaya baagamba nti Yesu Kristo teyafuga ng’omufuzi waabwe, but those who believe in Bahá'u'lláh ## naye abo abakkiririza mu Bahá'u'lláh say Jesus Christ has ruled over the hearts and lives of men ## bagamba nti Yesu Kristo, afuze emitima n'obulamu bw'abantu  for almost two thousand years ## okumala emyaka ng’enkumi bbiri, and His greatness is everlasting. ## era ekitiibwa Kye kya mirembe na mirembe. But until now the Jewish people have closed their eyes ## Naye n’okutuusa ne leero Abayudaaya babisse amaaso gaabwe and refused to accept Jesus Christ as their Messiah. ## era ne bagaana okukkiriza Yesu Kristo nga Masiya waabwe. 013 Now let us not be blind as the Jewish people were. ## Kale nno kitugwanidde ffe tuleme okubeera bamuzibe ng'Abayudaaya bwe baali. Let us not be blind and close our eyes to Bahá'u'lláh ## Tuleme okubeera bamuzibe nga tubikka amaaso gaffe eri Bahá'u'lláh and say He is not the Great Teacher for this day.## nga twekwasa nti si ye Muyigiriza Omukulu ow’olunaku luno. Bahá'u'lláh has opened the hidden sayings in the old books of all religions ## Bahá'u'lláh abikudde ebyogerwa ebyali bikisiddwa mu bitabo eby'edda eby'eddini zonna and made clear their meaning. ## era n’annyonnyola bulungi amakulu gaabyo. But this is not why we must say He is the Great Man for this day. ## Naye eno si y'ensonga etuwaliririza okugamba nti y’Oyo Omuntu ow’Amaanyi ow’olunaku luno. The sun does not need words to make it shine. ## Enjuba tyeeetaaga bigambo okugisobozesa okwaka. It shines by itself. ## Eyaka ku lwayo yennyini. So a Great Man does not need words from old sayings to prove He is great. ## Noolwekyo n'Omuntu ow’Amaanyi teyetaaga bigambo ebiva mu ebyo ebyayogerwa ab'edda okukakasa nga Ye bw’ali ow’amaanyi. Bahá'u'lláh said let every man be unafraid and ask for himself: ## Bahá'u'lláh yagamba nti buli muntu asaanidde obutatya era yennyini yeebuuzenga ebibuuzo: "Is this the truth?" ## "Gano ge mazima?" Let him open his eyes and ears and think for himself. ## Buli muntu asaanidde okuzibuka amaaso n’amatu ge era yeelowooleze yekka ku lulwe.  It is not good to believe something ## Si kirungi okukkiriza ekintu because other men say this is true. ## kubanga abantu abalala bagamba nti kituufu. Each man must believe because he has seen and heard for himself. ## Buli muntu ateekwa okukkiriza kubanga alabye era yeewuliriddeko ye kennyini. Bahá'u'lláh said, ## Bahá'u'lláh yagamba bwati: Let men see My acts and My words ## Leka abantu balabe ebikolwa byange era bawulire n’ebigambo byange and the good that comes from Me ## era n'ebirungi ebinva mu Nze and themselves judge of the truth. ## era bo bennyini beesalirewo amazima." 014 Moses said that when a man who claims to be a Prophet ## Musa yagamba nti omuntu eyeeyita Nnabbi says something shall come to pass and it does not, ## bw'ayogera n’agamba nti ekintu kirituukirira naye ne kitatuukirira, then has he spoken from himself only ## olwo abeera ayogedde ebiva mu ye yekka, and you shall not fear him. ## era temumutyanga. And Jesus Christ told us to beware of false prophets. ## Era Yesu Kristo yatukuutira okwekuuma eri bannabbi ab'obulimba. A tree is known by its fruits, He said. ## Yagamba nti, Omuti gumanyibwa okusinziira ku bibala byagwo. Can a man get bananas off a thorn bush? ## Omuntu ayinza okuyunja amatooke okuva ku muti ogw'amaggwa? A good tree has good fruit ## Omuti omulungi gubalako ebibala ebirungi, and by his acts and words shall a man be known. ## era bwatyo n'omuntu bw’alimanyibwa olw'ebikolwa n'ebigambo bye.” 015 In this book we will ask ## Mu kitabo kino, if Bahá'u'lláh is a true Great Leader, a Messenger of God. ## tujja kubuuza oba nga Bahá'u'lláh Mukulembeze ow’Amaanyi, Omubaka wa Katonda. We will ask if the things He foretold have come true ## Tujja kubuuza oba nga ebintu bye yayogerako nti biribaawo bituukiridde, and if what He said has made men better ## era oba nga ne bye yayogera bisobosezza abantu okufuuka abalungi okusinga nga bwe baali, and is changing the world or not. ## oba nga bikyusizza ensi yonna oba nedda. 016 The people among whom Bahá'u'lláh lived ## Abantu Bahá'u'lláh be yabeeranga nabo, were as divided in their opinion of Him ## baayawukana mu ndowooza ku mbeera Ze okufaananako as the people were among whom Jesus Christ lived. ## ng’abantu Yesu Kiristo be yabeeranga nabo. Most of the Jewish people hated Jesus Christ ## Abayudaaya abasinga obungi bakyawa Yesu Kristo and said He broke the law and should be killed. ## era baagamba nti yamenya amateeka era nti yali asaana kuttibwa. But some loved Him and believed Him ## Wabula abamu baali bamwagala era baamukkiriza  and these became the faithful friends and the band of Christians. ## era abo be baafuuka mikwano gye abeesigwa era ekibiina ky’Abakristaayo. They saw the light in Jesus Christ. ## Baalaba ekitangaala mu Yesu Kristo. The same thing happened to Bahá'u'lláh in His country among His people. ## Ekintu kye kimu kye kyatuuka ku Bahá'u'lláh mu nsi Ye wakati mu bantu Be. He was denied by most, ## Yawakanyizibwa abasinga obungi, but others saw He was the Messenger of God. ## naye abalala ne bakitegeera nti yali Mubaka wa Katonda. They believed in Him ## Baamukkiririzaamu  and they were called after His Name, Bahá’ís, ## era ne batuumibwa erinnya okuva mu linya Lye, Ababahá’í, just as the Christians were called after Christ's name, Christians. ## mu ngeri y’emu ng’abagoberezi ba Kristo bwe baatuumibwa Abakristaayo. 017 A hungry man seeks food. ## Omuntu alumwa enjala anoonya emmere. If your spirit is hungry for an answer to many questions ## Singa omwoyo gwo gulumwa enjala ey’okuddibwamu ebibuuzo ebingi, and if you seek a better way for the world, ## era singa onoonya embeera esinga obulungi ku lw’ensi yonna, then weigh carefully the words of this book. ## bwotyo nno opime n'obwegendereza ebigambo ebiri mu kitabo kino. 018 In this book we will tell you the full story of Bahá'u'lláh, ## Mu kitabo kino tujja kukunyumiza mu bujjuvu ebyafaayo bya Bahá'u'lláh, about His life and His words, ## ebifa ku bulamu Bwe n'ebigambo Bye, so you can judge for yourself if He is not a Messenger of God ## bwotyo osobole okwesalirawo oba nga Ono si ye Mubaka wa Katonda and a Man whose words are medicine for the sick world today. ## era ebigambo eby’Omuntu Ono si ly’eddagala ly'ensi endwadde leero. 019 Good is not like a stone to be laid aside, ## Obulungi tebufaanana ng’ejjinja erisendebwa ku bbali, a stone which never grows. ## ejjinja eritakula. Good is like a seed which must be planted ## Obulungi bufaanana n’ensigo eteekwa okusigibwa olwo and will then grow into a great tree. ## n’ekula n’evaamu omuti omunene. The good words and knowledge in this book ## Ebigambo ebirungi n'amagezi mu kitabo kino must be planted in your heart ## biteekwa okusigibwa mu mutima gwo and then you must see if at the end you do not say: ## era n'oluvannyuma olyooke olabe oba nga ku nkomerero ya byonna toogambe nti: This is true; I need this; ## Gano mazima; gano ngeetaaga; it will make the world better. ## gajja kufuula ensi ennungi okusinga nga bw’ebadde. Chapter 2 ## ESSUULA II THE ONE WHO CAME FIRST ## OYO EYASOOKA OKUJJA 020 In an ancient country which once gave the world great kings and poets ## Mu nsi ey’edda ennyo olumu eyawa ensi yonna ba kabaka ab’amaanyi n’abawandiisi b’ebitontome abaatiikirivu and was very powerful many centuries ago, ## era eyali ey’amaanyi ennyo ebyasa bingi ebiyise, Bahá'u'lláh was born. ## Bahá'u'lláh mwe yazaalibwa. The name of this land is Iran. ## Ekitundu kino kiyitibwa Iran. But countries grow old ## Naye nno ensi zikaddiwa even as men grow old ## mu ngeri y’emu ng’abantu bwe bakaddiwa and even as some men become feeble and mean with age, so it is with nations. ## era mu ngeri y’emu ng’abantu bwe bagenda banafuwa n’okuyiga emize emibi olw’obukadde, n'amawanga bwegatyo bwe gabeera. So, it was with Iran more than a hundred years ago. ## Bwekityo nakyo bwe kyali mu Iran emyaka nga kikumi egiyise. She had become poor, her people were ignorant, ## Ensi eyo yali eyavuwadde, abantu baayo nga babuyabuya her kings greedy and cruel. ## ne ba Kabaka baayo nga balina omululu era nga bakambwe. Her religious leaders were often ignorant, selfish and evil. ## Abakulembeze baayo ab’eddiini enfunda nnyingi baali tebamanyi kye baliko, abeerowoozaako bokka era aboonoonefu. Long before Jesus Christ was born among the Jewish people ## Ebbanga ddene nga Yesu Kristo tannazaalibwa wakati mu Bayudaaya, Iran had a Prophet. ## Iran yalina Nabbi. His name was Zoroaster ## Erinnya lye yali ayitibwa Zoroaster, and He brought inner light to His people. ## era Yaleetera abantu Be ekitangaala eky'omwoyo. After many centuries ## Nga wayiseewo ebyasa bingi, the people of Iran were conquered by another people ## abantu ab'omu Iran bawangulwa abantu ab'eggwanga eddala who were followers of the Prophet Muhammad, ## abaali abagoberezi ba Nnabbi Mohammad, and most of them became His followers. ## era abasinga obungi ku bo ne bafuuka abagoberezi ba Nnabbi Oyo. But the good these Great Men taught had become weak with age ## Naye nno ebintu ebirungi Abantu ab’Amaanyi bano bye baabasomesa byali binafuye olw’ebbanga eddene eryali liyiseewo and when Bahá'u'lláh was born ## era mu kiseera ekyo Bahá'u'lláh mwe yazaalirwa Iran was the darkest land in the world. ## Iran ly'eggwanga eryali lisingira ddala okubeera ery'ekizikiza mu nsi yonna. There was much hatred among the people ## Waaliwo obukyaayi bungi wakati w'abantu b'eggwanga eryo, and each one said that only the Prophet he followed had spoken truly. ## nga buli muntu agamba nti Nnabbi gwe yali agoberera ye yekka eyali ayogera ebintu eby'amazima. The light in their minds had gone out ## Ekitangaala mu mmeeme zaabwe kyali kizimedde, and the men who followed Muhammad said every other man, ## era abagoberezi ba Mohammad bagambanga nti omuntu omulala yenna, be he a follower of Jesus Christ ## abeere mugoberezi wa Yesu Kristo, or of Zoroaster ## owa Zoroaster, oba omugoberezi ow'omu ku Banabbi Abayudaaya, baamuyitanga mukaafiiri. or of one of the Jewish Prophets, was dirty. ## owa Zoroaster, oba omugoberezi ow'omu ku Banabbi Abayudaaya, baamuyitanga mukaafiiri. If the dress of a follower of Muhammad touched one of these men, ## Ekyambalo ky'omugoberezi wa Mohammad bwe kyakoonanga ku muntu ataali mugoberezi wa Muhammad, he was made dirty ## olwo nga ekyambalo ekyo kibalibwa nga ekyonoonese, and went home and put on a clean dress. ## era omuntu oyo akooneddwako ekyambalo ekyo yaddangayo ewuwe eka n'ayambala ekirala. If he took money from one of these men, ## Omugoberezi wa Mohammad bwe yafunanga ensimbi okuva ku muntu ataali mugoberezi wa Mohammad, he washed the money for it was dirty money. ## ensimbi ezo yamalanga kuzoozaako kubanga zaamubeeranga njama. So dark, so full of hatred were the people of that land. ## ## Abantu ab'omu nsi eyo baali babuutikiddwa ekizikiza aky’amaanyi era nga bajudde obukyayi obutagambika. Many times they killed the men who followed Jesus Christ or other Prophets. ## Enfunda nnyingi battanga abagoberezi ba Yesu Kristo oba aba Bannabbi abalala. We see how black the hearts of the people of this country had become. ## Kaakano tulaba engeri emitima gy'abantu ab'ensi eyo nga bwe gyali gifuuse egy’ekko. When men's hearts are black there is nothing ## Emitima gy'abantu bwe gibeera egy’ekko tewabaawo kintu kirala kyonna but injustice and hatred, ## okuggyako obukuluppya, obukyayi, ignorance, stealing, lying and fear. ## obutamanya, obubbi, obulimba, n'okutya. 021 But not all the people in Iran were like this. ## Naye nno abantu ab’omu Iran bonna si bwe baali bwebatyo. Some were good men and these believed that ## Abamu baali bantu balungi era bano bakkirizanga nti when the night is darkest, the day is soon to come. ## obudde bw’ekiro bwe bubeera nga bukutte kazigizigi omungi ennyo, olwo bubeera busemberera okukya. Their eyes and ears were open. ## Amaaso gaabwe n'amatu gaabwe byali bulindaala. Most of these men formed themselves into a group ## Abasinga obungi ku bantu bano beekolamu ekibiina and they read the book of Muhammad called the Qur'án ## ne basomanga ekitabo kya Nnabbi Muhammad ekiyitibwa Kuraani and said that in this book and from the words of Muhammad Himself ## era ne bagamba nti mu Kitabo kino era n'okuva mu bigambo bya Muhammad Mwene, it is clear that the time is near for a Great Man to come to us ## kitegeerekeka ekiseera kiri kumpi Omuntu ow’Amaanyi okujja gye tuli and they waited and watched. ## era baalindirira era ne batunula nkaliriza. This was the condition in the country of Iran over one hundred and thirty years ago. ## Eno y'embeera eyaliwo mu Iran mu bbanga ery'emyaka egisukka mu kikumi mu asatu egiyise. 022 In the nineteenth year of the last century, October 20, 1819 A.D. ## Mu mwaka ogw'ekkumi n'omwenda mu kyasa ekiyise, October 20 1819, A.D. a child was born to a merchant in a city called Shiraz. ## omwana yazaalibwa eri omusuubuzi ow'omu kibuga ekiyitibwa Shiraz. He was named Ali Muhammad. ## Yatuumibwa erinnya Ali Muhammad. Soon after He was born His father died ## Amangu ddala ng'omwana Ono yaakazaalibwa kitaawe yafa, and the brother of His mother watched over Him like a second father. ## era kkojjaawe kwe kumulabirira nga kitaawe bwe yandimuyisizza. This boy child Ali Muhammad was from His childhood beautiful ## Omwana ono omulenzi Ali Muhammad, okuviira ddala mu biseera by'obuto bwe yali mubalagavu, and good and very wise. ## ow'empisa ennungi, era omugezi ennyo. His family were followers of Muhammad and descendants of Muhammad. ## Ab’enju Ye baali bagoberezi ba Muhammad era nga baava mu lulyo lwa Muhammad. The child prayed and was taught to read the Quran ## Omwana yasaalanga era n'ayigirizibwa okusoma Kuraani but His teacher was surprised to see ## naye omusomesa we yewuunya nnyo okulaba that this Boy had wisdom inside Him ## ng’omwana ono alina amagezi munda mu Ye and he loved and honored his pupil. ## era yayagala era n'okussa ekitiibwa mu muyizi we. When the boy was fifteen ## Omulenzi Bwe yaweza emyaka ekkumi neetaano egy'obukulu He went to work with His uncles in their business. ## yagenda okukola ne bajjaabe mu mirimu gye baali bakola. When He was twenty-two He married. ## Bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu ebiri yawasa. He had one son who died a baby. ## Yazaalayo omwana omu omulenzi eyafa nga akyali muto. When He became twenty five the flower of His spirit opened. ## Bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu etaano ekimuli ky'omwoyo Gwe ne kimulisa. All who had known Him had said: ## Abo bonna abaali bamumanyi baagamba nti: This is a very unusual bud, ## Kino kye kimuli si kya bulijjo, when it opens it will be very beautiful ## era bwe kinaamulisizza ddala obulungi, kijja kuba kirungi nnyo, and the fruit it gives will be very rare. ## era ekibala ekinaakivaamu tekigenda kubeera kya bulijjo. 023 One night after sunset on the 22nd of May, 1844 A.D. ## Ekiro kimu oluvannyuma lw’enjuba okugwa nga 22 May1844 A.D. Ali Muhammad had a stranger as His guest. ## Ali Muhammad yakyaza omugenyi ataali wa bulijjo. This young man was one of the members of that group ## Omuvubuka ono yali omu ku bantu who were waiting and watching. ## abo abaali balindirira n’okutunula enkaliriza. To him Ali Muhammad said, ## Ali Muhammad yagamba omuvubuka oyo nti, "I am the One you have been looking for." ## "Nze y’Oyo gw'obadde onoonya". He then wrote in the presence of this young man ## Olwo nno Ye kwe kuwandiika, nga n'omuvubuka alaba, the first part of a most wonderful book. ## ekitundu ekisooka eky'Ekitabo ekisingira ddala eky’ekitalo. The young man was very impressed ## Omuvubuka yewuunya nnyo, and he listened all night to these wonderful words, ## era ekiro kyonna yakimala ng’awuliriza ebigambo bino eby’ekitalo and he said: "I accept you, I will follow you." ## era n'agamba nti, "Nkukkirizza era nja kukugoberera." Ali Muhammad told him that ## Ali Muhammad yamutegeeza nti although His words were great ## newaakubadde ng’ebigambo Bye (Ali Muhammad) byali bikulu, and although He was the Messenger of God, ## era nti newaakubadde nga Ye yali Mubaka wa Katonda, His work was only a beginning. ## omulimu Gwe gwali gutandika butandisi. He said: am the door leading to a Man much greater than I am. ## Yagamba bwati: "Nze mulyango oguyitibwamu okutuuka eri Omuntu Omukulu ennyo okusinga Nze. I go before Him ## Nze nzize nga Ye ajja oluvannyuma lwange, and call men to be ready ## nkoowoole abantu okwetegeka bamwanirize Ye when He comes to receive Him for He is the One ## bwalijja kubanga Ye y’Oyo God will send to lead men into all truth for this new day." ## Katonda gw'alituma okukulembera abantu okubatuusa mu mazima gonna ag'olunaku luno olupya.” In the language of the people of Iran, 'door' is called báb ## Mu lulimi olwogerwa abantu ab'omu Iran, ekigambo "mulyango" kitegeeza 'báb', and from then on Ali Muhammad was called the Báb ## era okuva mu kiseera ekyo n'okweyongerayo, Ali Muhammad yatandika okuyitibwanga Báb and those who followed Him were called Bábís. ## era n’abagoberezi be ne bayiitibwanga Ababábí. 024 At first the Báb said no one must speak of Him. ## Mu kusooka Báb yagaana omuntu n'omu okumwogerako. Only those whose inner eyes were bright enough ## Abo bokka abaalina amaaso agaalina ekitangaala eky’omu nda okusobola to see the truth in Him would He accept ## okulaba amazima agaali mu Ye beyakkirizanga bokka until a certain number was made full. ## okutuusa omuwendo omutuufu bwe gwajjuzibwa. This number became eighteen, seventeen men and one woman, ## Omuwendo ogwo gwali gwa bantu kkumi na munaana, abasajja kkumi na musanvu n’omukazi omu, the Báb Himself was the nineteenth. ## era Báb Mwene ye yali ow'ekkumi n'omwenda. The first was the young man who believed in Him first. ## Ow'oluberyeberye ye yali omuvubuka eyasooka okukkiririza mu Báb. No one told these eighteen people who the Báb was. ## Tewali muntu n’omu eyamanyisa abantu bano ekkumi noomunaana ku muntu ayitibwa Báb. In dreams, through prayer, through seeing Him walk by them, ## Nga bayita mu birooto, mu kusaba, ne mu kumulaba Ye ng'abayitako, they all recognized Him and believed in Him ## bonna baamutegeera Ye era ne bamukkiririzaamu  and said He was the Promised One. ## era ne bagamba nti Ye yali Oyo Eyasuubizibwa. 025 For six years the Báb taught ## Ebbanga lya myaka mukaaga Báb yayigiriza abantu and His eighteen chosen ones travelled ## era n'abalonde Be ekkumi n’omunaana nabo baatambulanga and also taught in Iran and in nearby lands. ## era ne bayigiriza mu Iran ne mu bitundu ebiriraanyeewo. A fire in dry grass burns stronger and stronger. ## Omuliro mu ssubi ekkalu gwaka nnyo n'okuteta ne guteta. So the words of the Báb spread all over the country ## Bwebityo n’ebigambo bya Báb nabyo bwe byabuna wonna mu Iran, and many whose hearts were pure ## era bangi abaalina emitima emirongoofu and who had their eyes and ears open ## era abaalina n'amaaso agatunula enkaliriza n'amatu agawuliriza and wanted to see the evil ways of men changed to good ways, ## era abaayagala okulaba ng’empisa z'abantu embi zikyusibwa ne zifuuka ennungi, believed in Him and followed Him and were called Bábís. ## baamukkiriza era ne bamugoberera era ne batuumibwa Ababábí. The great men and the little men alike; ## Abantu ab'ebitiibwa n'aba bulijjo awatali kusosolamu; women and children followed Him. ## abakazi n'abaana baamugoberera. But many more whose hearts were black ## Naye nno bangi abaalina emitima egy’ekko and who were afraid to change the old ways for better ways, ## era abaatya okukyusa embeera zaabwe ez'edda basobole okufuna ezisingako obulungi, hated Him and they banded together against Him ## baamukyawa era ne beegatta wamu okumulwanyisa Ye until all Iran was like a pot boiling on a great fire. ## okutuusa Iran yonna lwe yafaananira ddala ng’ensuwa eyeeserera ku muliro omungi. And the people argued between themselves, ## Era abantu olwo ne batandika okuwakana bokka na bokka, some saying He was right but most saying He was wrong, ## abamu nga bagamba nti Báb yali mutuufu naye abasinga obungi nga bagamba nti yali mukyamu, and it was like the days when Jesus Christ taught among the Jewish people, ## era embeera eno yafaananira ddala ng’eyo eyaliwo mu biseera bya Yesu Kristo mwe yayigiririzanga Abayudaaya, only it was worse. ## wabula nga ku mulundi guno embeera yali mbi nnyo okusinga ku olwo. And like the Jewish people two thousand years ago ## Era okufaananako ng'Abayudaaya emyaka enkumi bbiri emabega, they laughed at Him and their hatred grew. ## ne Báb baamusekerera era n’obukyayi bwabwe ne bulinnya nnyo. They took Him prisoner and cried out for His blood ## Yasibibwa mu kkomera era ne baleekaanira waggulu nga baagala okuyiwa omusaayi Gwe, and beat His followers and broke into their houses ## era ne baakuba abagoberezi Be, ne bamenya amayumba gaabwe and stole all they had, even their women. ## ne banyaga ebintu byabwe byonna bye baalina, era ne bawamba n’abakazi baabwe. 026 Over a thousand years before the Báb was born, ## Mu bbanga erisukka mu myaka olukumi Báb bwe yali nga tannazaalibwa, the Prophet Muhammad has said: ## Nnabbi Muhammad yagamba bwati: "One will come who shall be perfect like Moses ## "Waliwo Oyo agenda okujja alibeera atuukiridde nga Musa Who talked With the Great Spirit of God ## eyayogera n'Omwoyo Omutukuvu owa Katonda and worth His weight in valuable metal like Jesus Christ ## era omuzito ng’ekyuma mu buvumu okwenkana Yesu Kristo, and patient like the good man Job who is mentioned in the Bible. ## era omugumiikiriza ng'omusajja omulungi Yobu ayogerwako mu Baibuli. The good men who follow Him shall be cast on the dust ## Abantu abalungi abalimugoberera Oyo balinyugunyuzibwa mu nfuufu and their heads cut off and given as presents ## era emitwe gyabwe girisalibwako giweebweyo ng'ebirabo, and they shall be killed and burned and they shall be afraid. ## era balittibwa n'okwokebwa era balibeera mu kutya. The earth shall become red with their blood ## Ensi erifuuka mmyufu n'omusaayi gwabwe and their women shall weep and cry out loudly ## era n'abakazi baabwe baliyaziirana era baliraajana mu ddoboozi erya waggulu but these men will be my holy ones for all to see. ## naye abasajja bano balibeera abatukuvu bange abalirabibwa buli omu. And the prophecy of Muhammad came true. ## Era obunnabbi bwa Muhammad bwatuukirira. 027 The Báb was sent from one prison to another, ## Báb yaggibwanga mu kkomera erimu nazzibwa mu ddala, each one worse than the other. ## nga mu buli limu lisinga obubi eryo ly’avuddemu. He was separated from His wife and His mother ## Yayawulibwa ku mukyala We ne nnyina wamu and His uncle who was as a father to Him. ## ne kitaawe omuto eyali nga kitaawe ddala. He was separated from His followers. ## Yayawulibwa ne kubagoberezi Be. Month after month news came to Him ## Tewaayitangawo mwezi nga tafunye mawulire of the massacre of those good men ## ag'okutirimbulwa kw'abasajja abo abalungi who had risen up all over His native land and followed Him. ## abaali bagolokose wonna mu nsi Ye enzaaliranwa okumugoberera Ye. They were killed by the thousands and thousands ## Battibwa eyo mu nkumi na nkumi and often their wives and children were killed too. ## era enfunda nnyingi abakyala n’abaana baabwe nabo battibwanga. But before their enemies killed them they tortured them, ## Naye abalabe baabwe bwe baalinga tebannaba kubatta, basookanga kubatulugunya nnyo, they burned holes in them, they cut off their ears, ## ne babookyanga ne babawumuggulamu ebituli, baabasalangako amatu, put out their eyes, mutilated them. ## ne babatungulamu n’amaaso, ne babasalangako emikono n'amagulu. All this they endured because they believed the Báb had spoken true words ## Bino byonna baabigumira kubanga bakkiriza nti Báb yali ayogedde ebigambo eby’amazima and they would not deny Him even though it meant their death. ## era baali tebayinza kumwegaana newaakubadde nga kino kyali kibaviiramu okufa. 028 The king of Iran, his councillors, ## Kabaka wa Iran, abawi be ab’amagezi, his army and the religious leaders, ## eggye lye n'abakulembeze b'eddiini, all arose against the Báb and His followers. ## bonna baagolokoka okuwakanya n'abagoberezi Be. They said if they killed the Báb and the Bábís ## Baagamba nti singa batta Báb n'Ababábí, all this fire will be put out. ## omuliro guno gwali gujja kuzikizibwa. They were blind and could not see ## Baali bazibye amaaso era baali tebakyasobola kulaba that this fire was a light for their country. ## nti omuliro guno kyali kitangaala eky’ensi yaabwe. They forgot that a good thing cannot be killed ## Beerabira nti ekintu ekirungi tekiyinza kuzikirizibwa and that the more you hurt what a man loves ## era nti gy'okoma okulumya ekintu omuntu ky’ayagala the more his heart will cling to it. ## omutima gwe gye gweyongera okukinywererako. 029 The Báb was now thirty-one years old. ## Mu kiseera kino Báb yali awezezza emyaka amakumi asatu mu gumu egy'obukulu. His death was ordered by the king on July 9, 1850. ## Okuttibwa Kwe kwalagirwa nga July 9 1850. In the middle of the day He was hung from a wall by ropes ## Mu ssawa ez'omu ttuntu ku lunaku olwo, yawanikibwa ku kisenge ng’asibiddwa ku migwa in one of the squares in a city called Tabríz, ## mu kimu ku bibangirizi ebiri mu kibuga ekiyitibwa Tabríz. A youth of twenty one who was so devoted to his Master ## Omuvubuka omu ow'emyaka abiri n'emu egy'obukulu, eyali yeewereddeyo ddala eri Mukama we that he insisted on dying with Him, ## bwatyo n’akakasa nga bwayagalira ddala okufa ne Mukama we, was also hung from the wall in such a way ## naye yawanikibwa ku kisenge that his head rested on the Báb's breast. ## ng’omutwe gwe gugalamizibbwa mu kifuba kya Báb. 750 soldiers were ordered to shoot their rifles at them. ## Abaserikale 750 baalagirwa okubakuba ebyasi. They shot and a great smoke arose. ## Baakuba ssabbaawa zaabwe era ekikoomi ky’omukka eky’amaanyi ne kibuna wonna. When the smoke blew away ## Ekikoomi ky’omukka bwe kyaggwawo, the many hundreds of people were watching ## ebikumi n’ebikumi by’abantu abaali beerolera saw there were no dead bodies. ## tebaalabawo mulambo gwonna. The Báb had disappeared ## Báb teyaliiwo, and His companion was standing alone ## ate ye omugoberezi We yali ayimiridde bwa nnamunigina okumpi n'ekisenge and unhurt before the wall. ## era nga taliiko kamogo konna. Great surprise took all the people ## Abantu bonna baawuniikirira and they asked how could this be? ## era ne beebuza engeri kino gye kyali kisobola okubaawo? The soldiers were very surprised too ## Abaserikale nabo beewuunya nnyo, and their commander searched ## era omuduumizi waabwe yanoonya wonna and found the Báb quietly talking ## era oluvannyuma n'asanga Báb ng'ayogera to one of His followers in a room nearby. ## n'omu ku bagoberezi be mu bukkakkamu mu kisenge ekyali okumpi awo. Then this commander said: ## Olwo omuduumizi kwe kwogera nti: I will never shoot at the Báb again. ## Siriddayo nate kutunuza mudumu gwa mmundu okukuba Báb amasasi. He is a Man from God. ## Ono Muntu ava eri Katonda. He went from the square and took his soldiers with him. ## Yava mu kibangirizi ekyo wamu n’abasirikale be. The evil enemies of the Báb then brought other soldiers ## Abalabe ba Báb aboonoonefu olwo ne baleeta abaserikale abalala, and again hung the Báb and the youth from the wall as before ## ne baddamu okuwanika Báb n'omuvubuka ku kisenge, and the soldiers prepared to shoot them. ## ne beetegeka okubakuba amasasi. The Báb raised His voice and said to all the people watching: ## Báb yayimusa eddoboozi Lye n'agamba abantu bonna abaaliwo nti, "If you knew Who I am ## "Singa mubadde mummanyi, each one of you would choose to die with Me ## buli omu ku mmwe yadyewaddeyo okufa nange Nze as this youth has chosen. ## ng’omuvubuka ono bw'akoze. But you do not understand. ## Naye temutegeera You are blind. ## kubanga muli bazibe b'amaaso. A day will come when you will understand, ## Olunaku lulituuka lwe mulisobola okutegeera, but on that day I will no longer be among you! ## wabula ku lunaku olwo ssiribeera nammwe nate! Then another group of soldiers who had been brought fired their rifles. ## Olwo nno ekibinja ekirala eky’abaserikale ekyali kireeteddwa kwe kukuba emmundu zaabwe. The Báb and the youth were killed at once ## Báb n'omuvubuka ne bafiirawo mangu ago and their flesh knit together by the bullets. ## era ennyama y'omubiri gwabwe ne yeegatta wamu olw'amasasi agaagisensebula. Only the Báb's face was not disfigured. ## Ebitundu by'amaaso ga Báb bye byokka ebitaasensebuka. 030 Great was the rejoicing of the enemy that the Báb was dead. ## Okujaguza kw’abalabe kwali kw’amaanyi olw’okufa kwa Báb. Great was the sorrow of His followers ## Okunyolwa kw’abagoberezi Be kwali kwa kitalo nnyo that their Master was taken away from them. ## kubanga Mukama waabwe yali abajjiddwako. We know from history that ## Tukimanyi okuva mu byafaayo nti all those who were responsible for killing the Báb ## abo bonna abaavunaanyizibwa ku kuttibwa kwa Báb, the king and his councillors, ## nga mu abo mwe mwali Kabaka, abawi be ab’amgezi, the army commander and the religious leaders were punished ## omuduumizi w'amagye n'abakulembeze b'eddiini, baabonerezebwa and an evil fate overtook them. ## era baatuukibwako ebibonoobono eby’akabi. The king himself was murdered later on ## Kabaka yennyini oluvannyuma yatemulwa, and his dynasty disappeared. ## era n’olulyo lwe ne luzikirira. The men who led in the bloodshed of the Bábís ## Abasajja abaakulembera okuyiwa omusaayi gw’abagoberezi ba Báb were put to shame, were killed, ## baaswazibwa, battibwa, were overtaken by terrible diseases and misfortune. ## era ne balumbibwa endwadde enkambwe n’embeera embi ennyo. Just like the story of Jesus Christ and His sufferings, ## Ebyafaayo bya Yesu Kristo n'okubonyaabonyezebwa Kwe was the story of the Báb; ## nga bwe kwali, bwekutyo n’okwa Báb bwe kwali; and just as the heroic death of Jesus Christ made men love Him more, ## era ng’okufa kwa Yesu Kristo okw'obuzira bwe kwaleetera abantu okweyongera okumwagala, so was it with the Báb. ## n'okufa kwa Báb nakwo bwekutyo bwe kwaleetera abantu okweyongera okumwagala. After the Jewish people put Jesus Christ to death ## Abayudaaya bwe baamala okutta Yesu Kristo, His faithful followers knew His greatness better than before ## abagoberezi Be abeesigwa baamanya obukulu Bwe okusinga bwe baali babumanyi, and they went all over the world ## era baafuluma ne batambula mu bitundu byonna eby'ensi and carried His Truth to other nations. ## nga bagenda babunyisa amazima Ge eri amawanga gonna. The same thing has happened since the death of the Báb. ## Ekintu kye kimu kye kyaliwo oluvannyuma lw'okuttibwa kwa Báb. This book in your hands is proof of this. ## Ekitabo kino ky'okutte mu ngalo zo bwe bukakafu bwa kino. 031 After the Báb was killed His enemies threw His body ## Báb bwe yamala okuttibwa abalabe baanyugunya enjole Ye, and that of the youth who died with Him ## wamu n'omulambo gw'omuvubuka eyafa naye, outside the city wall to dishonor them ## ebweru wa bbugwe w’ekibuga n’ekigendererwa eky’okubatyoboola, but some of His faithful followers took them secretly away in the night ## naye abamu ku bagoberezi Be abeesigwa baajjayo emibiri gyabwe ekiro mu bubba and hid them in a box. ## ne bagikweka mu ssanduuko. For over fifty years they were hidden ## Okumalira ddala emyaka amakumi ataano emibiri gyabwe gyakwekebwa until at last and with great secrecy ## okutuusa oluvannyuma ennyo era mu kyama ennyo they were carried a journey of more than a month to the Holy Land, ## gyetikkibwa olugendo olwaweza omwezi n’okusingawo ne gitwalibwa mu Nsi Entukuvu, the land where Jesus Christ taught and died. ## ensi Yesu Kristo gye yayigiririzangamu era gye yafiiramu. Now the Báb has a mighty and wonderful tomb built for His body on the side of a mountain ## Kaakano amalaalo ag’ekitiibwa era agawuniikiriza gaazimbirwa Báb mu mbiriizi z'olusozi overlooking the sea in the City of Haifa. ## olwolekedde ennyanja eri mu Kibuga kya Haifa. Thousands of people visit this tomb every year ## Enkumi n’enkumi z’abantu bakyalira amalaalo gano buli mwaka and it is built on the spot Bahá'u'lláh Himself chose for it.## era gazimbiddwa mu kifo ekyalondebwa Bahá'u'lláh Ye Mwene. 032 What did the Báb do? ## Biki Báb bye yakola? From His childhood He was good and noble, ## Okuviira ddala mu buto Bwe, Báb yali muntu mulungi era ow'ekitiibwa, quite and gentle, wise and kind. ## omusirise era omuteefu, ow'amagezi era ow'ekisa. As soon as He became a man ## Amangu ddala nga yaakasajjakula, His mind and heart flowered into a wonderful blossom. ## emmeeme Ye n'omutima Gwe byamulisa ekimuli ekirungi ddala. It was in a dream that ## Yali ali mu kirooto He first talked with the Great Spirit of God. ## omulundi Gwe ogwasookera ddala Ye okwogera n'Omwoyo wa Katonda ow’Amaanyi. He dreamed that He saw the severed head of one of the grandsons of Muhammad ## Yaloota ng'alaba omutwe ogutemeddwa ku omu ku bazzukulu ba Muhammad, who also was one of Muhammad's successors. ## era ng’ono yali omu ku baasikira Muhammad. From this head precious drops of blood fell ## Okuva ku mutwe guno, amatondo g’omusaayi ogw’omuwendo gwakulukuta and the Báb drank them. ## era Báb n’aganywa. After this dream He was no more the same. ## Oluvannyuma lw'ekirooto ekyo, Báb teyaddayo kubeera kyekimu. He knew God had called Him to serve Him ## Yamanya nti Katonda yali amuyise okumuweereza, and to warn and lead men into a better way. ## okulabula n’okukulembera abantu mu kkubo erisingako obulungi. From that day on ## Okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo, He thought only of the work He must do. ## yalowoozanga ku mulimu gwokka Ye gwe yali ateekwa okukola. He gathered the first eighteen to believe in Him. ## Yakuŋŋaanya wamu abantu ekkumi n'omunana abaasookera ddala okumukkiririzaamu. He taught them and sent them all over the land to teach others. ## Yabayigiriza era n’abaweereza mu bitundu by’ensi eyo yonna okuyigiriza abalala. For this He was imprisoned ## Ekyo kye kyamuviiramu okusibibwa mu kkomera and killed after six years. ## n'oluvannyuma attibwe nga wayise emyaka mukaaga. 033 What did the Báb teach? ## Biki Báb bye yayigirizanga? He taught that men were now standing at the door of a new life. ## Yayigirizanga abantu nga mu kiseera kino bwe baali bayimiridde ku mulyango gw'obulamu obuggya. The old ways were no longer good enough for the future. ## Embeera z’obulamu enkadde zaali tezikyasaanira biseera eby'omu maaso. There must be changes and reforms ## Wateekwa okubeerawo enkyukakyuka n’okweddaabulula and men must go forward in better ways of brotherhood and friendship. ## era nti abantu bateekwa okugenda mu maaso mu ngeri esingako obulungi ey’obwasseruganda era ey’omukwano. But the heart of His teaching was this that He was only a door ## Naye ekinyusi eky’enjigiriza Ye kyali kino nti Ye yali Mulyango bulyango and a Man far greater than He would soon come after Him. ## era nti Omuntu ow’amaanyi okusinga Ye yali waakujja mangu oluvannyuma Lwe. He called this Man "the One God will send" ## Omuntu oyo Ye yamuyita "Oyo Katonda gwalituma" and told all His followers to watch out for Him ## era yakuutira abagoberezi Be okulindirira Omuntu Oyo  and to accept Him when He came. ## n'okumukkiriza waalijjira. He said: "I am a drop but He will be the ocean, ## Yagamba nti: "Nze ndi ttondo naye Ye alibeera ssemayanja, I am a word but He will be the whole book. ## Nze ndi kigambo naye Ye alibeera ekitabo ekijjudde. The Báb wrote many books ## Báb yawandiika ebitabo bingi but His greatest book was called the Bayán ## naye ekitabo Kye ekisingira ddala obukulu ky’ekyo ekiyitibwa Bayan as in it He gave instructions to His followers. ## kubanga mu kyo mwe yalambikira ebyo abagoberezi Be bye baalina okugoberera. He said: "My book, the Bayán, is like a ring upon My finger ## Yagamba bwati: "Ekitabo kyange, Bayan, kifaanana ng’empeta eri ku lugalo lwange and I Myself am like a ring upon the finger of 'the One God will send'." ## era Nze Mwene nfaanana ng’empeta eri ku lugalo ‘lw’Oyo Katonda gwalituma’.” So great was the One He was the door for, ## Omuntu Oyo Katonda gwalituma, nga Ye Báb gwe mulyango Gwe, yali wa kitiibwa nnyo, that He compared Himself to a ring on His finger. ## Báb Mwene n’atuuka n’okwegeraageranya ku mpeta ku lugalo Lwe. 034 The Báb explained many of the words in the Bible, ## Báb yannyonnyola bingi ku bigambo ebiri mu Baibuli, the book of the followers of Jesus Christ, ## ekitabo ky'Abagoberizi ba Yesu Kristo, and in the Qur'án, the book of the followers of Muhammad. ## era ne Kuraani, ekitabo ky'Abagoberezi ba Muhammad. He explained the Resurrection, Day Of Judgement, Heaven and Hell. ## Yannyonnyola amakulu g'Okuzuukira, Olunaku olw'Okusarirwako Omusango, Eggulu ne Ggeyeena. He said the true meaning of Resurrection ## Yagamba nti amakulu ggennyini ag'Okuzuukira is the coming of a new Messenger of God. ## kwe kulabika okw’Omubaka wa Katonda omuggya. When a man sees the truth in Him and accepts His words, ## Omuntu bw’alaba amazima mu Mubaka Oyo era n'akkiriza ebigambo Bye, this is Resurrection ## kuno kwe Kuzuukira, because before his heart is as dead but after his heart is alive. ## kubanga omuntu bw'abeera nga tannalaba mazima gano omutima gwe gubeera ng’ogufudde, naye bw'amala okugalaba omutima gwe gubeera mulamu. The dead are those whose hearts are buried in the grave of ignorance, ## Abafu beebo ab’emitima egiziikiddwa mu ntaana y'obutamanya, of thoughtlessness and lust. ## obutalowooza n’okululunkana. The Day of Judgement is the day ## Olunaku olw'Okusalirwako Omusango lwe lunaku when the new Messenger of God comes. ## Omubaka wa Katonda omuggya lw’alabikirako. This is the day when the men whose hearts are good ## Luno lwe lunaku abantu abalina emitima emirongoofu turn towards the Great Man ## lwe bakyukira eri Omuntu Oyo ow’ekitiibwa ennyo and love Him and follow Him, ## ne bamwagala era ne bamugoberera, and those whose hearts are evil stop up their ears ## ate abo abatali balongoofu mu mitima gyabwe lwe bateeka envumbo mu matu gaabwe and shut their eyes and turn from Him ## n'amaaso gaabwe ne bagaziba era ne bakyuka okuva eri Ye and so each man's nature is made clear. ## era bwetyo embeera ya buli muntu ne yeeyolekera ddala bulungi. Heaven is not a place but in the heart, ## Eggulu si kifo ekirabika wabula liri mu mutima gwa muntu, for heaven is to know God ## kubanga eggulu kwe kumanya Katonda and to turn to the One Who talks with Him ## n'okukyukira eri Oyo ayogera ne Katonda and to listen to His good words. ## era n'okuwuliriza ebigambo Bye ebirungi. Hell is not a place but is in each man's own heart. ## Ggeyeena nakyo si kifo ekirabika n'amaaso, wabula mbeera eri mu mutima gwa buli muntu. When he turns his back on good and on the Prophet of God ## Omuntu bw’aziimuula ebirungi era ne Nnabbi wa Katonda, his heart is dark and evil and he has hell inside him. ## omutima gwe gujjula ekizikiza n’obwonoonefu era abeera ne ggeyeena mu mutima gwe. The Báb taught that the spirit of man lives after death ## Báb yayigirizanga nti omwoyo gw'omuntu gubeera mulamu bw'amala okufa and can go on growing in goodness and beauty ## era guyinza okweyongera okukula mu bulungi but that the body of man does not rise up after death ## naye omubiri gw'omuntu teguzuukira, or go to a place called heaven or a place called hell. ## oba okugenda mu kifo ekiyitibwa Eggulu oba ekiyitibwa ggeyeena. He said this is all imagination. ## Yagamba nti ebyo byonna birowoozebwa bulowoozebwa nti biyinza okubeerawo. 035 The Báb told His followers ## Báb yabuulirira abagoberezi Be they must be as brothers loving one another. ## nti baali bateekwa okubeera ng’abooluganda nga baagalana. They must be courteous to all. ## Bateekwa okubeera abantubalamu eri bonna. They must do some useful work. ## Bateekwa okubaako n'omulimu ogw'omugaso gwe bakola. Even as a tree brings forth fruit, ## Okufaananako ng'omuti ogubala ebibala, men must work and not be idle. ## n'abantu nabo bateekwa okukola so si kubeera ba ngalobunani. All must be taught in schools. ## Bonna bateekwa okuyigirizibwa mu masomero. Women must have greater freedom. ## Abakazi bateekwa okubeera ne ddembe erisingako. The poor must be helped from what belongs to all the people together, ## Abaavu bateekwa okuyambibwa okuva mu ebyo eby’abantu bonna awamu, in other words by the community, ## mu ngeri endala okuva mu ebyo eby’abantu ab’omu kitundu, but no man must live by begging ## naye tewali muntu n'omu ateekwa okutambuliza obulamu bwe mu kusabiriza and no man must drink what intoxicates him. ## era tewali muntu yenna ateekwa okunywa ekyo ekitamutamiiza. Men must love the God Who created all men, ## Abantu bateekwa okwagala Katonda Oyo Omutonzi w'abantu bonna, for love lifts up men's hearts and makes them better. ## kubanga okwagala kuyimusa emitima gy'abantu era ne kubasobozesa okufuuka abantu abalungi. And all the Báb's followers must watch for the Messenger to come ## Era abagoberezi ba Báb bonna bateekwa okulindirira Omubaka alijja for His Message will be a good Message and change the world. ## kubanga Obubaka Bwe bulibeera Obubaka obulungi obulikyusa ensi yonna. 036 The Báb, the Great Man Who taught such wisdom, ## Báb, Omuntu ow’Ekitiibwa eyayigiriza ebintu eby'amagezi bwebityo, was imprisoned and killed. ## yasibibwa mu kkomera era n'attibwa. But He was happy to give His life for the truth He believed in. ## Wabula Ye yali musanyufu okuwaayo obulamu Bwe olw'amazima ge yakkiririzaamu. He suffered greatly for He loved all men greatly. ## Yabonaabona nnyo kubanga yayagala nnyo abantu bonna. His spirit did not die ## Omwoyo gwe tegwafa but changed the hearts of thousands and thousands of people in His country ## wabula gwakyusa emitima gy'abantu nkumi na nkumi ab'omu nsi Ye and made them better men. ## era ne gubafuula abalungi okusinga nga bwe baali. Everything He promised has come to be ## Buli kintu kyonna kye Ye kye yasuubiza kituukiridde and the One He said would come soon has come ## era n’Oyo gwe yagamba nti alijja mangu azze and brought the New Day to this world. ## era aleese Olunaku olupya mu nsi eno yonna. 037 Bahá'u'lláh said: "O men who are waiting, ## Bahá'u'lláh yagamba nti: "Abange mmwe abantu abalindirira, wait no more for He is come. ## temweyongera kulinda kubanga Ye azze. See His house and His Glory is therein. ## Mulabe ennyumba Ye era n'ekitiibwa Kye omwo mwe kiri. The Glory is the same Glory as of old, but the house is new. ## Ekitiibwa kino ky’Ekitiibwa eky’eddanedda, naye ennyumba yo mpya. 038 Every man has two parts, an inner and an outer being. ## Buli muntu alina ebitundu bibiri, obulamu obw’omu nda n’obwo obw’oku ngulu. He has a body and a spirit which lives after his body dies. ## Alina omubiri era n'omwoyo ogusigalawo ng'omubiri gwe gumaze okufa. But the Prophets of God have three parts a body, ## Naye Bannabbi ba Katonda balina ebitundu bisatu, omubiri, a spirit that survives after death ## omwoyo ogusigalawo ng'omubiri gumaze okufa, and a Spirit which comes from the Great Spirit of God ## n'Omwoyo oguva eri Omwoyo wa Katonda ow’Amaanyi and is always alive from the beginning that has no beginning to the end that has no end. ## era bulijjo ogubeerawo okuviira ddala ku lubareberye olutaliiko ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero etaliiko kkomo. An ordinary man is like a lamp ## Omuntu owa bulijjo afaanana ng’ettabaaza which his father and mother light when he is conceived. ## kitaawe ne nnyina gye bakoleeza nga ng’atondebwa mu lubuto lwa nnyina. When his body dies, the lamp is broken but the light, ## Omubiri gwe bwe gufa, ettabaaza ye ebumbulukuka naye ekitangaala, although our eyes no longer see it, ## newaakubadde amaaso gafe gabeera tegakyasobola kugiraba, goes on shining after death. ## kyeyongera okwakayakana n'oluvannyuma lw'okufa. But the Spirits of the Prophets of God are like the sun. ## Naye Emyoyo gya Bannabbi ba Katonda gifaanana ng’Enjuba. It shines today, it will shine tomorrow, it has always shone. ## Eyakaayakana olwaleero, ejja kwakaayakana enkya, era bulijjo ebadde eyakaayakana. This is why these Prophets can talk with the Great Spirit of God. ## Eno y’ensonga lwaki Bannabbi bano basobola okwogera n'Omwoyo wa Katonda ow’Amaanyi. They are different from us. They have always existed. ## Ba njawulo ku ffe. Babaddewo bbanga lyonna. 039 Bahá'u'lláh was the son of one of the Ministers of the king of Iran. ## Bahá'u'lláh yali mutabani w'omu ku Bakungu ba Kabaka wa Iran. His father was wealthy and wise and honored. ## Kitaawe yali muggagga, omugezi era assibwamu ekitiibwa. He was born on the 12th of November, 1817 A.D. ## Yazaalibwa nga 12 November 1817 A.D. in the capital of Iran in a city called Teheran. ## mu kibuga ekikulu ekya Iran, ekiyitibwa Teheran. He was given the name Husayn 'Alí. ## Yatuumibwa erinnya Husayn ‘Alí. It was not until many years later that ## Luvannyuma nnyo nga wayiseewo ebbanga ddene ddala He took the name Bahá'u'lláh which means the Light of God. ## erinnya Lye okukyusibwa n’atuumibwa Bahá'u'lláh, ekitegeeza Ekitangaala kya Katonda. Like the Báb, from His earliest childhood ## Okufaanana nga Báb, okuviira ddala mu biseera by'obuto Bwe, everyone spoke of His beauty and wisdom. ## buli omu yayogeranga ku bulungi Bwe n'amagezi Ge. He never went to school but learned in His home. ## Teyagendako mu ssomero wabula yasomera waka. His son 'Abdu'l-Bahá said: ## Mutabani We 'Abdu'l-Bahá yagamba nti: "My Father from childhood was very kind and generous. ## "Kitange yali wakisa era omugabi okuviira ddala mu buto Bwe. He had a great love to be outside ## Yayagalanga nnyo okubeera ebweru, and would go into the fields away from the city. ## era yagendanga ennimiro ezaali zeesudde ekibuga. He drew all people to Him, high and low, ## Yasikirizanga abantu okukuŋŋaaniranga buli weyabeeranga, abeebitiibwa n'abakopi, even the children would gather about Him. ## era n'abaana nabo baakuŋŋaanira we yabeeranga. When He was only thirteen or fourteen ## Bwe yaweza emyaka kkumi neesatu oba kkumi neena, He was famous for His wisdom. ## yayatiikirira nnyo olw'amagezi Ge. He would talk to men on any matter ## Yasobolanga okwogera n’abantu ku nsonga yonna  and answer any question they asked Him. ## era n’okwanukula ekibuuzo kyonna kye baamubuuzanga. He discussed with the religious leaders in large gatherings ## Yakubaganyanga ebirowoozo n'abakulembeze b’eddiini mu nkuŋŋaana gaggadde and explained religious questions to them that were very hard to understand. ## n’abalambululiranga bulungi ebibuuzo bye baalina ebikwata ku ddiini ebitaalinga byangu kutegeera. They listened to His words and wondered at His knowledge. ## Baawulirizanga ebigambo Bye era ne beewuunya olw’obumanyi Bwe. When My Father was twenty two years old ## Kitange bwe yali awezezza emyaka abiri mu ebiri egy’obukulu kitaawe n’afa His father died and the ministers wished Him ## era Abakungu ba Kabaka ne bamwagaliza to take His father's place as was the custom but He refused. ## okudda mu kifo kya kitaawe ng'empisa bwe yali, wabula Ye yagaana. Then the Prime Minister said: ## Awo Katikkiro kye yava agamba nti: 'Leave Him alone, such a position is unworthy of Him; ## "Mumwesonyiwe, ekifo nga ekyo tekimujaamu; He has some greater work He is thinking of; ## Ye alina omulimu ogusingako obukulu gw’alowoozaako;   I do not understand Him ## simutegeera but I know destiny has a great thing in store for Him; ## naye nkimanyi nti mu bulamu Bwe waliwo enteekateeka ey’amaanyi mu Ye; His 'thoughts are not like ours, leave Him alone'. ## ebirowoozo Bye si by’ebirowoozo byaffe, mumwesonyiwe’.” 040 Already when He was only twelve years old ## Bahá'u'lláh bwe yali awezezza emyaka kumi neebiri egy'obukulu something happened to Bahá'u'lláh that changed Him. ## waliwo ekintu ekyamutuukako ekyakyusa obulamu Bwe. His older brother was married and great feasts were held. ## Mukulu We yawasa era ne wabaawo entujjo ennene ddala. They brought a man who had a play to amuse the guests. ## Baaleetayo omusajja eyalina omuzannyo ogw’okusanyusa abagenyi. Before them he made little dolls walk and act like the King and his court. ## Mu maaso gaabwe yabalaga buddole obutambula era ne bweyisa nga Kabaka bw’abeera ng'ali mu lubiri lwe. When a man looked at this he saw all the glory and wealth of the King before him ## Omuntu bwe yatunuulira kino yalaba ekitiibwa n'obuggagga bwa Kabaka mu maaso ge and the man spoke words for them ## era omusajja yabwogerera ne bufaananira ddala ng'abantu, and it was like real people, only very small. ## okuggyako nti bwo bwali butono nnyo. Bahá'u'lláh enjoyed this very much. ## Kino Bahá'u'lláh kyamusanyusa nnyo. When it was over and everyone was going home ## Ebyo nga biwedde era buli omu bwe yali addayo ewaabwe, He saw a man leaving with a box on his back. ## Bahá'u'lláh yalaba omusajja eyali agenda nga yeebagadde essanduuko ku mabega ge. He said to His father, ## Kye yava abuuza Kitaawe nti: "Who is that man and what is he carrying?" ## "Omusajja oyo y'ani era yeebagadde ki?" And His father said: "That is the man who made the dolls move and speak ## Kitaawe kwe kumuddamu nti: "Oyo ye musajja eyalagidde buddole okutambula n'okwogera and in his box he has the King and his court. ## era mu ssanduuko omwo alinamu Kabaka n'olubiri lwe. Bahá'u'lláh wondered at this very much ## Kino Bahá'u'lláh kyamwewuunyisa era okuva ku lunaku olwo and He said that from that day He understood ## n’agamba nga bwe yali akitegedde that all the glory of the King and his wealth and his court was not important ## nti ekitiibwa kya Kabaka kyonna, obuggagga bwe n'olubiri lwe, si bikulu nnyo and it became for Him as little and worthless as the eye of a dead ant. ## era ne bimulabkira ng'ebintu ebitono ennyo era ebitaliimu nsa okufaanana ng'eriiso ly’enkuyege efudde. So even as a boy Bahá'u'lláh realized the world is small ## Bwatyo nno ne bwe yali ng’akyali mulenzi muto, Bahá'u'lláh yakitegeera nti ensi yali nfunda and all its great things soon pass and are as nothing. ## era nga n’ebintu byayo byonna eby’amaanyi ebigirimu bwe biyita buyisi era omutali kantu. 041 In 1844 when the Báb first spoke to the young stranger and told him Who He was, ## Mu 1844 Bab lwe yasookera ddala okwogera n'omuvubuka gwe yali tamanyi era n'amweyanjulira, Bahá'u'lláh was 27 years old. ## Bahaullah yali awezezza emyaka 27. He was married and His oldest son 'Abdu'l-Bahá ## Yali mufumbo era mutabani We omukulu, 'Abdu'l-Bahá, was born on the same night ## eyazaalibwa mu kiro kye kimu that the Báb first spoke of His great Message. ## Báb kye yasookera ddala okwatuliramu Obubaka Bwe Obukulu. One of the first things the Báb did ## Ekimu ku bintu Báb, bye yasookerako okukola, when the number of eighteen to believe in Him became complete, ## abo abaamukkiriza ekkumi noomunaana nga bamaze okuwera, was to send the first one who had believed in Him to Teheran ## kwe kuweereza oyo eyasookera ddala okumukkiriza mu kibuga Teheran because He said in that city is a great treasure ## kubanga Ye yagamba nti mu kibuga ekyo mwe mwali ekintu eky’omuwendo ennyo and He gave him a letter to deliver. ## era yamuwa ebbaluwa agitwaleyo. He did not say: "In Teheran is a man called Husayn 'Alí, find Him." ## Era teyamugamba nti: "Mu kibuga Teheran eriyo omuntu eriyo omusajja ayitibwa Husayn ‘Ali, Oyo gw’oba onoonya." He said: "Go to Teheran ## Wabula yamugamba nti: "Genda mu kibuga Teheran, and there you have a work to perform which you will do." ## era eyo ojja kubeera n’omulimu ogw’okukola era ojja kugukola." Heart guided heart and so this messenger one day went to Teheran ## Omutima gwaluŋŋamizibwa omutima, era bwatyo omubaka lwali lumu yagenda e Teheran and sent Bahá'u'lláh the letter he had from the Báb. ## era n’aweereza Bahá'u'lláh ebbaluwa gye yaweebwa Báb. Bahá'u'lláh said at once: "I believe in the Báb." ## Amangu ddala nga Bahá'u'lláh yaakafuna ebbaluwa eyo, yagamba nti: "Nzikiririza mu Báb." From that time He devoted all His time to serving the Báb ## Okuviira ddala mu kiseera ekyo Bahá’u’lláh yawaayo ebiseera Bye byonna okuweereza and telling the people of Him. ## n'okubuulira abantu ebikwata ku Báb. He was so wise, so strong in faith, ## Yali mugezigezi nnyo, ajjudde okukkiriza, that all the Bábís leaned on Him and loved Him greatly. ## bwebatyo Ababábí bonna ne bamweyuniranga Ye n’okumwagala ennyo. He went from town to town ## Yatambulanga mu buli kibuga teaching the people and helping the Bábís. ## ng'ayigiriza abantu n’okuyambanga abagoberezi ba Báb. His friends laughed at Him ## Mikwano Gye baamusekereranga and were astonished that He who had wealth and fame ## era ne beewuunya nnyo okulaba nti omuntu ng’Oyo omuggagga should work for the Báb. ## era omwatikirivu akolera Báb. When the Báb was made prisoner and could no longer travel, ## Báb yasibibwa mu kkomera era nga takyayinza kutambula, it was Bahá'u'lláh Who gave courage to the Bábís ## yali Bahá'u'lláh, eyaddaabirizanga abagoberezi ba Báb and kept the flame of faith burning in their hearts. ## n’okubasobozesa okukuuma omuliro gw’enzikiriza nga gubumbujja mu mitima gyabwe. For this He was punished by the evil enemies of the light. ## Olw’ebikolwa bino, yabonerezebwa abalabe b’ekitangaala ababi. In Iran they had a cruel punishment. ## Mu Iran baalinanga ekibonerezo eky'obukambwe. They tied a man and beat him with sticks upon the soles of his feet. ## Baasibanga omuntu ne bamukuba emiggo ku bisinziiro. This causes great pain. ## Okukubwa ku bisinziiro kuleeta obulumi bungi. Both the Báb and Bahá'u'lláh were punished in this way three times most cruelty. ## Bombi, Báb ne Bahá'u'lláh, baabonerezebwa mu ngeri eyo ey’ettima ery’ekitalo emirundi esatu. When the Báb was put to death ## Báb bwe yattibwa, it was Bahá'u'lláh Who became the real leader. ## Baha'u'llah ye yafuuka omukulembeze yennyini. Just as lightning strikes the highest tree ## Okufaanana laddu bw’ekuba omuti ogusingira ddala obuwanvu, so the hatred of the evil people turned to Bahá'u'lláh ## bwebutyo n'obukyayi bw'abantu ababi bwe bwakyukira Bahá'u'lláh after the Báb was dead. ## oluvannyuma lw'okufa kwa Báb. 042 Thousands of Bábís had been slaughtered in these few years. ## Mu myaka egyo emitono Ababábí nkumi na nkumi baali bamaze okutirimbulwa. One young Bábí suffered so much ## Omuvubuka omu Omubábí yakosebwa nnyo to see all these innocent good people killed for nothing ## bwe yalabannga abantu bano bonna abataalina musango that his mind became unbalanced. ## nga battibwa bwatyo n’atabuka omutwe. He thought that if he killed the king of Iran ## Yalowooza nti singa atta Kabaka wa Iran he would avenge all this bloodshed. ## yandibadde awoolera eggwanga olw’okuyiwa omusaayi kuno. He took a gun and when the king and his men came by, ## Bwatyo kye yava akwata emmundu era kabaka n’abasajja be bwe baali bayitawo, he shot at him. ## yamusindirira ekyasi. But so foolish and disturbed was his mind ## Naye bambi kubanga yali mulagajjavu ate nga n’omutwe gwe gwali gutabuse, that he put small shot in his gun ## yateeka obuganga butono mu mmundu which would not kill a man but only a bird ## obwali butasobola okutta omuntu wabula ekinyonyi obunyonyi, and all he did was to wound the king a very little. ## era mpozzi kye yasobola okukola kwali kussa akawundu akatono ennyo ku kabaka. But this was a terrible thing. ## Naye nno ekikolwa kino kyali kya ntiisa nnyo. He was killed at once by the king's men ## Abasajja ba Kabaka baamuttirawo and in their fear and anger they turned on Bahá'u'lláh ## era olw'okutya wamu n'obusungu bye baalina mu kiseera ekyo, baalumba Bahá'u'lláh Who was in a village some distance away ## eyali mu kyalo ekyali kyesuddeko akabanga okuva awaali enjega eno and knew nothing of this young Bábí's folly. ## era ataamanya ku kikolwa kino eky’omuvubuka Omubábí ekyali eky’obusirisiru. They took Him prisoner at once ## Amangu ago, Bahá'u'lláh yakwatibwa accusing Him of being behind this attack on the king. ## n’aggalirwa nga bamulanga okwetaba mu lukwe olwali lugenderera okutemula Kabaka. Bahá'u'lláh was innocent, all the Bábís were innocent ## Kyokka Bahá'u'lláh teyalina musango gwonna, n’Ababábí bonna tebaalina musango except this mad youth and a few of his friends, ## okuggyako omuvubuka oyo omugwi w’eddalu wamu n'emikwano gye abatonotono, but they took Bahá'u'lláh prisoner ## naye era baakwata Bahá'u'lláh and led Him barefoot and with His head bare to the sun, to Teheran. ## ne bamukunguzza okumutuusa e Teheran nga tayambadde na ngatto era n’omutwe Gwe ## nga tegukuliiko kiremba mu musana omungi, a great insult in that country, ## ekintu ekibalibwa nga eky'ekivve ennyo mu Iran. All the people threw stones at Him ## Abantu bonna baamukasuukirira amayinja, and cursed Him and spat at Him. ## ne bamukolimira wamu n’okumuwandulira amalusu. In Teheran He was put in an underground prison ## Mu Teheran yasibirwa mu kkomera eriri wansi mu ttaka, so deep that three flights or steps led down to it. ## era nga omuntu okutuukayo, yali alina okukkirira wansi eyo ng’ayita ku madaala ga mirundi essatu. Thieves and murderers were kept here. ## Ababbi n’abatemu baasibirwanga mu kkomera lino. An iron collar was fastened to His neck ## Omusipi ogw’ekyuma gwamwambikibwa bulago Bwe and great chains put on His feet. ## era n’ebigere Bye ne bisibirwa agajegere aganene. There was no light and very little air ## Mu kkomera lino temwalimu kitangaala kyonna, empewo yali ntono nnyo and almost no food ## era n’emmere nga ya muswaba ddala. and one hundred and fifty men were in that small black place ## Mu kkomera lino lyalimu abasibe kikumi mu ataano abaateekebwa mu kasenge ako akatono ennyo akaali kajjudde ekizikiza and the smell was terrible. ## era akaalimu ekivundu ekibi ennyo. For four months Bahá'u'lláh with other Bábís was in this prison, ## Bahá'u'lláh n'Ababábí baamala emyezi ena mu kkomera lino the worst prison in the whole country. ## kkomera eryali lisingira ddala obubi mu Iran. Each day some were taken out and killed ## Buli lunaku abamu ku basibe batwalibwanga ebweru ne battibwa, and each day the wife of Bahá'u'lláh and His three small children were afraid ## era mukyala wa Bahá'u'lláh n'abaana Be abasatu abato buli lunaku olwakyanga baabeeranga mu kweraliikirira that day would be Bahá'u'lláh's turn ## nga balowooza nti olunaku olwo and He would be killed too. ## lwe lwali olwa Bahá’u’lláh okuttibwa. All over Iran the men of the king ## Wonna mu Iran abasajja ba Kabaka with fire and sword slaughtered the Bábís. ## baatirimbulanga Ababábí nga bakozesa emmundu n'ebitala. 043 Just as the Báb had a dream ## Mu ngeri y’emu nga Báb bwe yalooto and knew He was called by God in that dream, ## era n’amanya nti Ye yali ayitiddwa Katonda mu kirooto ekyo, so Bahá'u'lláh in this black prison ## bwatyo ne Bahá'u'lláh ng’ali mu kkomera lino ebbi ennyo, was called by God in a dream ## mu ngeri y’emu yayitibwa Katonda mu kirooto, and He heard these wonderful words: ## era yawulira ebigambo bino eby’ettendo: "I will give You victory through Yourself ## "Nja kukutuusa ku buwanguzi nga mbuyisa mu Ggwe Mwene and through the words Your pen will write. ## era ne mu bigambo akafumu Ko bye kaliwandiika. Do not grieve over this that has come upon You ## Tewennyamira olwa kino ekikutuuseeko and do not be afraid for You are safe. ## era totya kubanga tewali kabi akajja okukutuukako. Soon God will raise up the treasures of the earth ## Mangu Katonda ajja kuyimusa abaagalwa ennyo abali mu nsi, which are men who will assist You in Your Name ## nga abo be bantu abalikuyamba mu Linnya Lyo and through Yourself, ## mu Ggwe Mwene, for with Your Name God has given life to the hearts of all ## kubanga ku lw’Erinnya Lyo Katonda awadde obulamu eri emitima gy'abantu abo bonna those good men who believe in Him. ## abalungi abakkiririza mu Ye. 044 The family and friends of Bahá'u'lláh ## Ab'enju ya Bahá'u'lláh ne mikwano Gye were all the time working to save His life. ## ekiseera kyonna bakola butaweera okuwonya obulamu Bwe. It was proved that He had nothing to do with the attack on the king. ## Obujulizi obukakasa nti Ye teyalina mukono gwonna mu lukwe olwali lugenderera okutta Kabaka bwaleetebwa. His family, being much honored and well known, ## Kubanga ab'enju ya Bahá'u'lláh baali bassibwamu nnyo ekitiibwa era nga bamanyiddwa nnyo, succeeded in getting an order from the king to set Him free. ## baasobola okufuna ekiragiro okuva eri Kabaka ekiyimbula Bahá’u’lláh. He was so weak and ill they thought he would die. ## Bwe yateebwa okuva mu kkomera, yali munafu era nga mulwadde nnyo ekyaleetera abantu okulowooza nti yali agenda na kufa. When He was in prison, His wife and His eldest son 'Abdu'l-Bahá ## Bahá’u’lláh bwe yali mu kkomera, mukyala We ne mutabani We omukulu, 'Abdu'l-Bahá, who was eight years old ## eyali aweza emyaka munaana egy'obukulu and His little daughter and baby son suffered much from hunger. ## ne muwala We omuto wamu ne mutabai We eyali omuwere, baabonaabona nnyo olw'okubulwa eky’okulya. All His wealth had been taken by His enemies ## Eby’obugagga Bwe byonna byali bitwaliddwa abalabe Be and no one would go to His family ## era nga tewaali muntu n'omu eyali ayinza kudduukirira ab’omu maka Ge to help them because of the anger of the king. ## olw'okutya obusungu bwa kabaka. Now that He was out of prison they were afraid He would die ## Kaakano wadde yali avudde mu kkomera, ab'omu maka Ge baali beeraliikirivu nnyo nga balowooza nti yali agenda kufa because He was so ill. ## kubanga yali mulwadde nnyo. At last the king said he would not kill Bahá'u'lláh ## Oluvannyuma ennyo Kabaka yagamba nti yali tagenda kutta Bahá'u'lláh, but He must leave Iran at once and forever. ## wabula yali ateekwa okwamuka Iran mbagirawo era n’obutaddira ddala. Bahá'u'lláh decided to go to Iraq, ## Bahá'u'lláh yasalawo okugenda mu Iraq, a country many days journey away to the west. ## ensi eyali ewala mu bugwanjuba bwa Iran, ng’olugendo omuntu lw’alina okutambula okugituukamu lwali lutwala ennaku nnyingi. It was winter and very cold ## Kyali kiseera kya butiti era obunnyogovu bwali bungi nnyo and He and His family with one of His brothers by the same mother ## Ye n’abomu maka Ge n’omu ku baganda Be owa nnyinoomu and a few other Bábís all went away together, ## wamu n’Ababábí abatonotono we baasitulira okugenda mu nsi eyo. They suffered much on this long journey ## Baabonaabona nnyo mu lugendo luno oluwanvu to a far city called Baghdad. ## olwabatuusa mu kibuga Baghdad. 045 In the Bible there is a story ## Mu Baibuli mulimu ebyafaayo ebiraga that sons of Adam and Eve were called Cain and Abel, ## nti batabani ba Adamu ne Kaawa baali bayitibwa Kaini ne Aberi, that Cain was jealous of Abel and killed him. ## era nti Kaini yakwatirwa Aberi obuggya era bwatyo n'amutta. Brothers have been enemies many, many times ## Emirundi mingi abooluganda batera nnyo okubeera n'empalana wakati waabwe, and so it was with Bahá'u'lláh. ## era bwekityo bwe kyatuuka ne Bahá'u'lláh. He had a younger half-brother called Yahya ## Bahá'u'lláh yalina muganda We omuto, ataali mwana wa nnyina, eyayitibwanga Yahya whom He loved very much ## gwe yayagalanga ennyo, and whom the Báb, at the wish of Bahá'u'lláh, had made the head of the Bábís ## era oluvannyuma lw’okusembebwa Bahá’u’lláh, Báb yamuwa obukulu bw’okukulembera Ababábí until the time when "He Whom God would send" should come to the Bábís. ## okutuusa mu kiseera “Oyo Katonda Ye gw’aliweereza” azze eri Ababábí. When Bahá'u'lláh was in prison this Yahya ## Bahá'u'lláh bwe yali mu kkomera, ran to the mountains for safety. ## Yahya n'addukira mu nsozi okwewonya. But after Bahá'u'lláh was sent from Iran ## Wabula oluvannyuma lwa Bahá'u'lláh okuŋŋangusibwa okuva mu Iran, he went to Baghdad too. ## ne Yahya naye yagenda mu kibuga Baghdad. Now Bahá'u'lláh was like a light shining ## Mu kiseera ekyo Bahá'u'lláh yali afaanana ng’ekitangaala ekyaayakana wonna and more and more Bábís gathered about Him ## era Ababábí bulijjo ne bajjanga eri Ye . and listened to His good words. ## okuwuliriza ebigambo Bye ebirungi This made Yahya angry and he began to make trouble. ## Kino kyamunyiiza nnyo Yahya era n'atandika n'okuleetewo emitawaana. When Bahá'u'lláh saw His brother hated Him ## Bahá'u'lláh bwe yalaba nga muganda We amukyaye and all the time was making trouble, ## era ng’ebiseera byonna aleetawo obutali butebenkevu, He was very sad because He had been like a father to this younger brother ## yanakuwala nnyo kubanga yalinga taata eri mutoowe ono who was from another mother. ## ataali mwana wa nnyina. He thought, "If I go away maybe his jealousy and hatred will become less ## Yalowooza bwati:”Singa nvaawo wano neŋŋenda ewala eyo oboolyawo obuggya bwa Yahya n'obukyayi bwe biyinza okukendeerako and he will stop his trouble which is an evil thing for the Bábís. ## n'alekera awo okuleeta emitawaana, ekintu ekintu ekyali eky’obulabe ennyo eri Ababábí. So He took a cloak and a bowl ## Bwatyo nno kwe kukwata ekizibawo Kye n'ekibya Kye and went away on foot to the distant mountains ## era yatambuza bigere okwolekera eyo mu nsozi ez'ewala, and He told no one, not even His family, where He went. ## era tewali n'omu gwe yabuulirako gye yali agenda, wadde ab'omu nju Ye. For two years He lived there ## Eyo yamalayo ebbanga lya myaka ebbiri, and Bahá'u'lláh Himself said of these years: ## era emyaka egyo Bahá'u'lláh Mwene agyogerako bwati: In the first when I came to this land of Iraq ## Mu kusooka bwe nnatuuka mu nsi eno Iraq, I saw the shadow of coming events ## nnalaba ekisikirize ky'ebintu ebyali bigenda okujja so I decided to go away. ## era kye nnava nsalawo okuva mu nsi eno. I went to the wilderness and there I stayed alone for two years. ## Nnagenda mu ddungu era eyo gye nnabeera obw’omu okumala emyaka ebiri. Tears of great sorrow poured from My eyes and in My heart ## Amaziga ag'ennyiike ennyingi gaayikanga okuva mu maaso gange era n'omusaayi ogw'omu mutima gwange the blood boiled with pain. ## ne gwesera olw'obulumi. Many nights I had nothing to eat ## Ebiro bingi ssaalinanga mmere yakulya and many days I had no rest. ## era ebiseera bingi emisana ssaawummulanga. I swear by God that although I was in such distress ## Ndayira mu Katonda nti newaakubadde nga nali mu kubonaabona okw'engeri eyo, My spirit was full of joy. ## omwoyo gwange gwali gujjudde essanyu. In My solitude no news of the good or the harm, ## Mu bwannamunigina bwange Nze, tewali mawulire malungi oba mabi, the health or the illness of any man came to Me. ## ag'obulamu oba obulwadde bw'omuntu yenna agatuukanga eri Nze. I spoke with My own spirit ## Nayogeranga n'omwoyo gwange Nze and forgot the world and all that is in it. ## era ne nnerabira ensi n'ebigirimu byonna. I did not know that ## Nnali simanyi nti the net of destiny is bigger than what men plan ## ekitimba ky’entuuko kinene nnyo okusinga enteekateeka z'abantu, and the spear of the Will of God goes farther than what men's minds think of. ## era nti n’effumu ly’Okwagala kwa Katonda lifumita wala munda n’okusukka emmeeme z’abantu bwe zirowooza. The Will of God is above a man's will. ## Okwagala kwa Katonda waggulu w’okwagala kw’omuntu. From the snares God sets, ## Okuva mu mitego Katonda gy’atega, no man can escape and no spirit can find peace ## tewali muntu n'omu ayinza okugisimattuka, era tewali mwoyo guyinza kufuna mirembe except in accepting God's will. ## okuggyako nga gukkiriza ebyo Katonda Ye by’ayagala. I swear by the goodness of God that ## Ndayira ku bulungi bwa Katonda nti when I went away I thought I would never return. ## bwe nnagenda nnalowooza nti ssirikomawo nate. My purpose in going away was ## Ekigendererwa ekyali mu kugenda kwange kyali that I should not be a cause of strife among the Bábís ## nti Nze ssaayagala kubeera nsibuko ey’obukuubagano wakati mu Babábí, and disturb the peace of My friends ## era nga ssaayagala kutaataaganya ddembe lya mikwano gyange and that through Me the hearts of My companions should be hurt and disturbed. ## era n’emitima gy’abanywanyi gireme kulumwa n'okutabulwatabulwa ku lwange Nze. But this did not help ## Wabula ekyo tekyayamba, and each man had his own plan ## era buli muntu kinnoomu yalina enteekateeka ze and followed his own desire. ## era yagobereranga ebyo bye yeegombanga.  At last I heard from the Spirit of God His command to go back. ## Oluvannyuma lwa byonna nnawulira okuva ew’Omwoyo wa Katonda ekiragiro ekyali kindagira okuddayo. I gave up My own will and obeyed His Will. ## Nnasazaamu okwagala kwange Nze ne nsalawo okugoberera Okwagala kwa Katonda. What man can say that I saw when I returned. ## Muntu ki ayinza okwogera ebyo bye nalaba nga nkomyewo! Two years had passed ## Emyaka ebbiri gyali giyiseewo and My enemies had worked all the time to destroy Me, ## era mu kiseera ekyo abalabe baali bakola butaweera okunsaanyaawo Nze, and all men know this is the truth. ## era abantu bonna bakimanyi nti gano ge mazima. 046 Conditions became so bad in Baghdad that Bahá'u'lláh's family ## Embeera yeeyongera okwonooneka mu Baghdad bwebatyo ab'omu maka ga Bahá'u'lláh sent a man to look for Him in the mountains ## baatuma omusajja okugenda mu nsozi anoonye Bahá’u’lláh and beg Him to come back. ## era amwegayirire addeyo eka. With a heavy heart Bahá'u'lláh consented ## Mu nnaku ey’ekitalo, Bahá'u'lláh yakkiriza okuddayo and set out for Baghdad chanting over and over a very sad prayer. ## era ne yessa mu ddene okwolekera Baghdad nga bw’agenda ayimba mu kuddiŋŋana essaala ey’ennaku ennyo. He had gone away for the good of the Bábís ## Bahá'u'lláh yali avudde mu Baghdad ku lw’obulungi bw’Ababábí, hoping His absence would make peace. ## ng’asuubira nti obutabeerawo Bwe bwali bujja kuleetawo emirembe okufuna eddembe. He found upon His return everything in a very bad condition. ## Si bwekityo bwe kyali. Embeera yali yeeyongedde okwonooneka. YYY His brother Yahya had behaved worse than before. ## Muganda We Yahya yali yeeyisizza bubi nnyo n'okusinga bwe kyali mu kusooka. The Bábís were divided and quarrelling with each other. ## Ababábí baali beeyawuddeyawuddemu era nga bayombagana bokka na bokka. The light the Báb had lighted had almost gone out. ## Ekitangaala Báb kye yali akoleezezza kumpi kyali kizimedde. With His good words, His kindness, His acts, ## Olw’ebigambo Bye ebirungi, ekisa Kye, n’ebikolwa Bye, Bahá'u'lláh gave new life to all. ## Bahá'u'lláh yawa bonna obulamu obuggya. Soon in Baghdad all praised Him ## Mu bbanga ttono abantu ab'omu Baghdad bonna baamutendereza Ye and wise men and chiefs sat at His feet and listened to Him. ## era abasajja abagezigezi n'abaami baatuulanga wansi awo okuliraana ebigere Bye ne bamuwulirizanga. Many Bábís came from Iran on foot to see Him ## Ababábí bangi baatambulanga okuva mu Iran ku bigere ne bajjanga mu Baghdad okumulaba and went back with Bahá'u'lláh name on their lips ## era baddangayo ng’erinnya lya Bahá’u’lláh teribava ku mimwa and said He was like the Báb. ## era baagambanga nti yali afaanana nga Báb. This did not please His enemies ## Kino tekyasanyusa n’akamu abalabe Be or His brother or the religious leaders. ## oba muganda We oba abakulembeze b’eddiini. All the time they made trouble. ## Ebiseera byonna baabimalanga mu kuleetawo mitawaana. In the end they sent word to the king of Iran ## Ku nkomerero ya byonna, baaweereza Kabaka wa Iran obubaka that if Bahá'u'lláh remained in Baghdad ## nti singa Bahá'u'lláh asigala ng’ayinaayina mu Baghdad, He would win all hearts and He should be sent away. ## yali ajja kukyusa emitima gy'abantu bonna, era nti yali asana kugobebwa ave mu kibuga ekyo. 047 One day the religious leaders sent one of their wise men to Him ## Lwali lumu abakulembeze b'eddiini baatuma omu ku bantu baabwe abagezigezi eri Bahá’u’lláh, and he talked with Bahá'u'lláh ## era yayogera ne Bahá'u'lláh and found His words good. ## era n’akizuula nti ebigambo Bye byali birungi. He said to Him: "Do some wonder (miracle) for us ## Olwo kwe kumugamba nti, "Tukolereyo ku ky'amagero that I may go and tell the other leaders, ## olwo nange naagenda mbuulire abakulembeze abalala nti 'See what Bahá'u'lláh had done, ## ‘Mulabe Bahá'u'lláh kyakoze. He is a man who is truly from God'." ## Ddaladdala omuntu ono mu mazima azze okuva eri Katonda'." Bahá'u'lláh said: "Go to them and let them choose a wonder (miracle) ## Bahá'u'lláh kwe kumuddamu nti, "Genda gye bali era obasabe balondeyo eky'amagero and whatever they choose I will do it, ## era kyonna kye banaalonda nja kukikola, and when I have done it, ## era bwe nnaamala okukikola, let them swear they will believe I am God's Messenger. ## basaana balayire nti Nze Mubaka wa Katonda. The man took this message to the other religious leaders ## Omusajja yatwala obubaka bwa Bahá'u'lláh eri abakulembeze b’eddiini bali abalala but they were very afraid. ## naye baatya nnyo. They said: "If He does it we must accept Him ## Baagamba nti: "Singa Bahá'u'lláh akola ekyamagero ky’atusabye okwerondera tuteekwa okumukkiriza Ye and we will lose our power. ## era olwo obuyinza bwaffe nga bukomye. So they refused and sent no word to Him ## Bwebatyo nno baagaana tebaddayo kumuweereza bubaka bwonna and they went on making trouble. ## era ne beeyongera bweyongezi okukola ebyambyone. 048 Black clouds were gathering over Bahá'u'lláh's head ## Ebire ebya kazigizigi byali byekuŋŋaanyizza ku mutwe gwa Bahá'u'lláh but He was not afraid. ## wabula Ye teyalina kutya kwonna. In these years He wrote many good books ## Mu myaka gino yawandiika ebitabo bingi ebirungi and words of great wisdom. ## era n'ebigambo eby'amagezi ddala. There was a big river flowing by Baghdad ## Waliwo omugga omunene ogwakulukutanga nga guyita ku lukingirizi lw’ekibuga Baghdad and Bahá'u'lláh many times walked beside it ## era enfunda nnyingi Bahá'u'lláh yateranga okutambulira ku lubalama lw'omugga guno, and when He came home He was happy ## era bwe yaddangayo ekka yabeeranga musanyufu, and wrote good words that lifted up the hearts of men. ## era n’awandiikanga ebigambo ebirungi ebyayimusanga emitima gy'abantu. 049 Bahá'u'lláh and His family were now very poor. ## Bahá'u'lláh n'ab'omu maka Ge baali baavu nnyo. The king of Iran had taken all He had. ## Kabaka wa Iran yali ebintu Bye byonna bye yalina. He was so poor He had only one shirt ## Okumanya Bahá'u'lláh yali mwavu, yalinayo essaati emu bweti, and this would be washed while He waited ## era bwe baajoozanga, okutuusa lwe yakalanga and then He would put it on again when it was dry. ## olwo n’alyoka ajambala. Although He was free to come and go in Baghdad, ## Newaakubadde nga yalinga wa ddembe okutambula wonna mu Baghdad nga Ye bwe yali ayagala, He was under the hand of the king of Turkey ## yali mu mikono gya Kabaka wa Turkey. and because of the mischief His enemies ## Naye nno olw'empisa embi ez’abalabe Be, the king of Iran sent word to this king of Turkey ## Kabaka wa Iran yaweereza obubaka eri Kabaka wa Turkey, that he had heard Bahá'u'lláh was making trouble. ## ng'amutegeeza nga bwe yali amaze okuwulirako nti Bahá'u'lláh aleeseewo emitawaana. He asked his brother king to take Bahá'u'lláh away from Baghdad ## Yasaba kabaka munne afuumuule Bahá'u'lláh mu Baghdad amutwale  to a far place where men did not know Him ## mu kifo eky'ewala abantu gye baali batamumanyi and He would stop talking about the Báb. ## bwatyo alekeraawo okwogera ku Báb. The king of Turkey accepted and commanded his chiefs in Baghdad ## Kabaka wa Turkey ekyo yakikkiriza era n'alagira abaami be abaali mu Baghdad to send Bahá'u'lláh and His family to a far city many months journey away. ## okuweereza Bahá'u'lláh wamu n'ab'omu maka Ge mu kibuga ekirala ekayali kyesuulidde ddala Baghdad, ng’okukituukamu omuntu kimutwalira emyezi mingi. When the command of the king was known, ## Ekiragiro kya Kabaka bwe kyamanyika, all the friends of Bahá'u'lláh were in great sorrow ## mikwano gya Bahá'u'lláh baafuna ekiyongobero kya maanyi and the people of Baghdad who loved Him were very sad. ## era n'abantu ab'omu Baghdad abaali bamwagala baanakuwala nnyo. Hundreds of people came to His house ## Abantu bikumi na bikumi bakuŋŋaanira mu maka Ge and there was no place for them ## era ne watabeera kifo ekimala bonna okujaamu. so Bahá'u'lláh went to a big garden ## Bwatyo Bahá’u’lláh kwe kugenda mu nnimiro ennene and lived twelve days in a tent ## era n’abeera eyo okumala ennaku kumi na bbiri ng’asula mu weema, and all came to see Him and wept ## era bonna bajja okumulaba Ye era baakuba ebiwoobe and lamented because He was going away. ## n’okukungubaga kubanga yali agenda kubavaako. Even the chief men of the city came ## Mwattu n’abaami abakulu mu kibuga nabo bajja Ye we yali and said their hearts were sad because He was leaving. ## ne bamutegeeza nga bwe baali abanakuwavu kubanga yali agenda kubavaako. This garden had many sweet smelling flowers ## Mu nnimiro eno mwalimu ebimuli bingi ebyali biwunya akaloosa akalungi ennyo and Bahá'u'lláh gave these flowers each day to His friends ## era buli lunaku Bahá'u'lláh yabinoganga n’abigabira mikwano Gye bonna and showed them much love. ## era yabalaga okwagala okw'ekitalo. It was in this garden that ## Mu nnimiro eno Bahá'u'lláh at last told His friends ## Bahá'u'lláh mwe yategeereza mikwano Gye He was the One the Báb had said they must watch and wait for. ## nga Ye Mwene bwe yali Omuntu Oyo Báb gwe yababuulirako gwe baali bateekwa okutunuulira n’okulindirira. The first to fall at His feet ## Eyasookera ddala okuvunnama ku bigere Bye and accept Him was His eldest son, 'Abdu'l-Bahá, ## n’okumukkiriza yali mutabani We omukulu 'Abdu'l-Bahá, who was nineteen years old. ## eyali aweza emyaka ekkumi noomwenda egy'obukulu. Bahá'u'lláh Himself was then forty-six years old, ## Mu kiseera ekyo Bahá'u'lláh Ye yali aweza emyaka ana mu mukaaga egy'obukulu a man in the full of life, beautiful to look upon. ## n’ali ku ntikko y’obulamu Bwe era ng’alabika bulungi. Bahá'u'lláh gave that garden the name of Riḍván which means Paradise ## Ennimiro eyo Bahá'u'lláh yagituuma erinnya Riḍván, eritegeeza Olusuku lwa Katonda, and all over the world every year the followers of Bahá'u'lláh ## era mu nsi yonna abagoberezi ba Bahá'u'lláh buli mwaka hold a great feast called the Feast of Riḍván ## bassaawo ekijaguzo eky’amaanyi ekiyitibwa Entujjo ya Riḍván, in memory or that blessed day when Bahá'u'lláh told His friends ## olw'okujjukiranga olunaku olwo olukulu Bahá'u'lláh lwe yalangirira eri mikwano Gye He was the One God had sent as the Báb promised. ## nti Ye yali Oyo Katonda gwe yali aweerezza nga Báb bwe yasuubiza. 050a Bahá'u'lláh with twelve members of His family ## Bahá'u'lláh n'abantu kkumi na babiri ku b’omu maka Ge and seventy-two Bábís who went with Him ## wamu n'Ababábí nsaanvu mu babiri abaagenda naye at last arrived in the city called Istanbul ## oluvannyuma baatuuka mu kibuga Istanbul, where the king of Turkey lived. ## omwabeeranga Kabaka we Buturuuki. This king was a very cruel man ## Kabaka ono yali musajja mukambwe nnyo, and because of the evil words of the king of Iran ## era olw'ebigambo eby’okuvvoola ebyamubuulirwa Kabaka we Iran he had become the enemy of Bahá'u'lláh. ## naye yali afuuse omulabe wa Bahá'u'lláh. He gave Him a house very poor and too small to live in ## Kabaka ono yawa Bahá'u'lláh akayumba akatono ennyo era akaali mu mbeera embi ennyo okusulamu, and after four months he commanded Him ## era emyezi ena bwe gyayitawo yalagira Bahá’u’lláh and all His family and followers ## n’abagoberezi Be okwamuka ekibuga ekyo to go away to another far city called Adrianople. ## bagende mu kibuga ekirala ekyali ewala eyo ekiyitibwa Adrianople. It was winter time and in that country ## Kyali kiseera kya butiti obungi ennyo era mu nsi eyo the rain that falls in winter becomes ice and snow ## enkuba etonnya mu biseera eby'obutiti amazzi gakwata ebitole n’omuzira gugwa mungi nnyo and the people die because of the cold if they are outside too long. ## era abantu bwe babeera ebweru mu bunnyogovu okumala ebbanga eddene bafa olw’obutiti obungi ennyo. They were poor and their clothes were not warm ## Abantu bano baali baavu sso nga n’engoye zaabwe teziyinzaga kubabugumya mu butiti obwo, but the heart of the king was like stone ## naye omutima gwa Kabaka ono gwalinga ejjinja and he sent them all away. ## era bonna yabasindiikiriza ne bagenda. They suffered greatly on this journey. ## Baaboonaabona nnyo nga bali mu lugendo luno. 050b Bahá'u'lláh lived in this city of Adrianople for four years. ## Bahá'u'lláh yabeera mu kibuga Adrianople okumala emyaka ena. Now all the Bábís everywhere had heard He was the One ## Mu kiseera ekyo Ababábí mu bitundu byonna baali bamaze okuwulira nga Bahá'u'lláh bwe yali Oyo the Báb had promised them would come ## Báb gwe yabasuubiza nti alijja and they accepted Him with great joy ## era baamukkiriza Ye n'essanyu lingi, and from then on to the present day ## era okuviira ddala mu kiseera ekyo n’okutuusa kaakano they and all the followers of Bahá'u'lláh are called Bahá’ís ## Ababábí n’abagoberezi ba Bahá'u'lláh bonna bayitibwa Ababáhá’í, which means followers of Bahá'u'lláh. ## ekitegeeza abagoberezi ba Bahá'u'lláh. Bahá'u'lláh like the Báb wrote many books ## Bahá’u’lláh, okufaanana nga Báb, yawandiika ebitabo bingi, and He wrote letters to all the great kings in the world ## era yawandiikira ne bakabaka ab’amaanyi mu nsi yonna amabaluwa and He called the kings and high chiefs to listen to His voice. ## era yakoowoola bakabaka n'abaami aba waggulu okuwuliriza eddoboozi Lye. At this time ## Mu kiseera kino, word came that the king of Iran had once again stirred up the king of Turkey ## waaliwo ebigambo ebiyitiŋŋana nti kabaka wa Iran nate yali azzeemu okufukuutirira kabaka wa Turkey and Bahá'u'lláh and His family were to be sent away ## era nti Bahá'u'lláh n'abantu ab’omu maka Ge baali bagenda kugobebwa a fourth time to a distant prison city called Akka. ## omulundi ogw'okuna ne batwalibwe ewala ddala eyo mu kibuga eky’ekkomera ekyali kiyitibwa Akka. He then wrote to His great enemy, the king of Iran, and said: ## Bahá'u'lláh bwe yatuuka eyo, yawandiikira kabaka wa Iran, omulabe We eyali asingira ddala obukulu, omukukku gw’ebbaluwa ng’agamba bwati: "O king, be just to your people ## "Ayi kabaka, obeere mwenkanya eri abantu bo and cease to persecute the Bábís. ## era olekere awo okuyigganya Ababábí. Bring Me face with the men who accuse Me of evil ## Onzikirize Nze okujja mu maaso g’abo abannumiriza okubeera omukozi w’ebyambyone and let Me answer them openly." ## era onzikirize okubaanukula mu lwatu." And He said: "We are now going to the city of Akka and according to what men say ## Era n’ayongerako bwati, "Kaakano tugenda mu kibuga Akka era okusinziira ku bantu bye boogera, it is the worst city in the world. ## ekibuga kino kye kisingira ddala obubi mu nsi yonna. It has the worst weather ## Kirina embeera y'obudde esingira ddala okubeera embi and the worst water and the worst air. ## n’amazzi agasingira ddala okubeera amabi, n'empewo esinga okubeera embi ennyo. In it they intend to imprison Me ## Mu kibuga kino mwe bagenderera okunsibira Nze and shut in our faces the door of life ## era n’okuggala oluggi lw'obulamu mu maaso gaffe and take away from us all the good things in this world ## era n’okutuggirako ddala ebintu ebirungi byonna eby’omu nsi eno until the end of our days. ## okutuusa ku nkomerero y'ennaku zaffe. I swear by God! ## Ndayira mu Katonda! Though fatigue should weaken Me and hunger destroy Me ## Newaakubadde ng’obukoowu bulinnafuya Nze n’enjala okunsaanyaawo Nze, and though My bed be a rock and My companions animals, ## era newaakubadde olwazi lwe lulibeera ekitanda kyange Nze era n'ebisolo bye biribeera mikwano gyange Nze, I will not be afraid. ## ssigenda kutya n'akamu. I will be strong and patient. ## Nze ndibeera mugumu era omugumiikiriza. God will give Me strength ## Katonda alimpa amaanyi and at all times will praise God and thank Him. ## era ebiseera byonna Nze naatenderezanga Katonda n'okumwebazanga. God answers all men who pray to Him ## Katonda ayanukula essaala z’abo bonna abamusaba and is near all men who call out to Him. ## era tabeera wala n'abo abamukoowoola. Through suffering is the light of God ## Mu kubonaabona ekitangaala kya Katonda made to shine and praise called forth from men's hearts. ## mwe kyakaayakanira era n'okutendereza okuva mu mitima gy'abantu mwe kuyita. This has been the way of God in all times. ## Lino lye libadde ekkubo lya Katonda emirembe gyonna. But the wicked king of Iran tortured to death the youth ## Wabula ye kabaka we Iran eyali omwonoonefu ennyo yabonyaabonya era n’atta omuvubuka who brought this letter to him ## eyamutwalira ebbaluwa eno and was more evil in his ways than ever before.## era ne yeeyongerera ddala okukola ebikolwa ebibi ebyali n’okusinga ebyo bye yali akoze. 051 Bahá'u'lláh and over seventy of His family ## Bahá'u'lláh n’abantu abaali basukka mu nsaanvu omwali ab’omu maka Ge and followers went by boat to Akka. ## wamu n’abagoberezi Be baasaabalira mu lyato okutuuka mu Akka. This city was only for prisoners ## Ekibuga kino kyali kya basibe bokka and its evil name was known everywhere. ## era erinnya lyako ebbi ennyo lyali limanyiddwa wonna. The people were like serpents with black hearts ## Abantu baamu embeera zaabwe zaali zifaanana ng’ezo ez’emisota egy'obusagwa ng’emitima gyabwe gijjudde ekko  and disease lived among them. ## era nga balina n’endwadde ezitagambika. When Bahá'u'lláh came ashore the crowd laughed at Him and said: ## Bahá'u'lláh bwe yagoba ku ttale, ogubiina gw’abantu abaaliwo baamusekerera era ne bagamba nti: "Here comes the one the people of Iran worship. Look at him." ## "Abantu ab’omu Iran omuntu gwe basinza wuuno atuuse. Mumulabe." He and His followers were taken not to a house ## Ye n'abagoberezi Be tebaatwalibwa mu nnyumba but to the old stone fortress ## wabula baatwalibwa mu kigo ekikadde eky’amayinja and cast into a bare room with iron bars in the windows. ## ne basindiikirizibwa mu kisenge omutaali kantu konna era nga kirina emitayimbwa mu madirisa gaakyo. His young daughter fainted ## Muwala We omuto yazirika but no water could be found except a dirty pool on the floor ## naye tewaali na ttondo lya ttuzzi okuggyako ekidiba omwali amazzi amakyafu wansi awo ku ttaka and when they gave her this, she vomited. ## era bwe baagamuwa okunywako, yasesema. Disease broke out among them ## Endwadde zaabalukawo wakati mu bo and at one time 'Abdu'l-Bahá alone was nursing seventy of His companions. ## era waaliwo ekiseera 'Abdu'l-Bahá obw’omu bwati lwe yalina okujjanjaba abanywanyi Be ensanvu. For two years they lived in this terrible prison ## Baabeera mu kkomera lino evvundu okumala ebbanga lya myaka ebbiri, and here the younger son of Bahá'u'lláh, ## era nga bali omwo, mutabani wa Baha'u'llah 'Abdu'l-Bahá's brother by the first wife of Bahá'u'lláh, ## omuto owa mukyala We eyasooka era muganda 'Abdu'l-Bahá,  fell through a hole in the roof and was killed. ## yayita mu kituli ekyali waggulu mu kasolya ne yeerindiggula wansi era n'afa. They washed his body for burial ## Baanaaza omubiri gwe gulyoke guziikibwe before the face of Bahá'u'lláh Who sat and watched ## nga ne Bahá'u'lláh atudde awo alaba and cried out: "O God! I have given My son as a sacrifice ## era bwatyo yakuba omulanga nti: "Ayi Katonda mpaddeyo mutabani wange Nze nga ssaddaaka that all men may become as brothers and live in peace. ## bwebatyo abantu bonna basobole okufuuka ng’abooluganda era babeerenga mu mirembe. 052 Of all the sufferings of Bahá'u'lláh ## Mu kubonaabona kwonna Bahá'u'lláh kwe yayitamu, His suffering in Akka was the greatest, ## okubonaabona Kwe mu Akka kwe kwasingira ddala okubeera okubi ennyo, even greater than when He was chained in the dark prison of Teheran. ## n’okusinga okwo kwe yayitamu bwe yakaligibwa mu njegere mu kkomera ery'ekizikiza mu Teheran. He therefore called Akka the Most Great Prison. ## Noolwekyo yatuuma Akka erinnya "Ekkomera Ssemakomera”. He wrote to one of His friends: ## Yawandiikira omu ku mikwano Gye bwati: "If you could see Me now you would not know Me so changed I have become." ## "Ssinga oyinza okundabako kati tewandiitegedde Nze olw’engeri gye nkyuseemu.” He said: "The marks of the spear are on this tree for all men to see." ## Yayongerako nti “Enkovu z'effumu ziri ku muti guno bonna basobole okuziraba." He meant was like a tree that had been attacked with the spears of enemies. ## Kye yali ategeeza mu kwogera bwatyo kiri nti Ye yali afaaanana ng'omuti ogwali gulumbiddwa amafumu g'abalabe. 053 After Bahá'u'lláh and His family ## Bahá'u'lláh n’abantu ab’omu maka Ge and followers had spent two years in the stone fortress of Akka ## wamu n'abagoberezi Be bwe baali nga baakamala ebbanga lya myaka ebiri mu kigo eky’amayinja mu Akka, this place was needed for soldiers ## ekifo kino kyali kyetaagibwa abasirikale okukikozesa. so the chief men of Akka sent Him to a house in the city and the other companions to a big house. ## Bwebatyo abaami abakulu ab’omu Akka baamusindika, Ye ne banywanyi Be, mu nnyumba eyali mu kibuga. For over nine years Bahá'u'lláh saw no green. ## Okumala ebbanga lya myaka mwenda n'okusingawo, Bahá'u'lláh teyalaba ku kimera kyonna ekya kiragala. The city was very crowded, the streets small, ## Ekibuga kyalimu omujjuzo gw’abantu, enguudo nga ntono, and nothing grew in it. ## era temwalimu kimera kyonna. Bahá'u'lláh stayed in His house for He was a prisoner. ## Bahá'u'lláh yabeeranga mu nnyumba Ye eno kubanga yali musibe. The Bahá’ís came from Iran and Turkey ## Ababáha’i baavanga mu Iran ne Buturuuki and other countries to see Him. ## wamu n’amawanga amalala ne bajjanga okumulaba. Often they travelled four months on foot to get to Akka ## Enfunda nnyingi baatambuzanga bigere okumala emyezi ena okutuuka mu Akka, and when they arrived in Akka they were not allowed to enter. ## era bwe baatuukanga tebakkirizibwanga okuyingira mu kibuga kino. They stood outside the city wall ## Baayimiriranga ebweru wa bbugwe w’ekibuga  and looked at the window of His room ## ne batunuuliranga eddirisa ly’ekisenge Kye, and sometimes, if they were fortunate, ## era oluusi bwe baafunanga omukisa, they would see His face at the window ## baasobolanga okulaba obwanga Bwe and He would wave His hand at them. ## era naye yabawuubiranga omukono Gwe okubalamusa. This filled their hearts with joy ## Kino kyajjuzanga emitima gyabwe n’essanyu lingi and they would go home and tell others He was alive. ## era ne baddangayo ewaabwe ne bategeeza bannaabwe nti Ye yali mulamu. And because of their love for Him ## Era olw'okwagala kwe baalina eri Ye, the light the Báb had lighted ## ekitangaala Báb kye yali akoleezezza did not go out but went on growing brighter. ## tekyazimeera wabula kyeyongera bweyongezi okwakaayakana. 053 A good man is known to all ## Omuntu omulungi amanyibwa buli omu, and as the years went by ## era emyaka bwe gyagenda giyitawo, all the good words and acts of Bahá'u'lláh made the people love Him. ## ebigambo bya Bahá'u'lláh n’ebikolwa Bye ebirungi byaleetera abantu okumwagala. The chief men of the city, ## Abantu abakulu mu kibuga even the men who represented the cruel king who held Bahá'u'lláh a prisoner, ## wamu n’abakungu ba kabaka eyali ow’ettima eyateeka Bahá'u'lláh mu kkomera, came to admire Him and love Him. ## baatandika okumutendereza n’okumwagala. 'Abdu'l-Bahá suffered very much ## 'Abdu'l-Bahá yanyolwanga nnyo okulaba to see His Father always shut up in this terrible prison city. ## nga buli kiseera Kitaawe aggalibwa mu kkomera ery’ekibuga ekyo eryali ebbi ennyo. He remembered had said one day, ## ‘Abdu’l-Bahá ajjukira Kitaawe ng’agamba bwati: "It is nine years I have not seen anything green. ## "Kati emyaka giweze mwenda nga ssirabanga ku kimera kyonna. The country is the world of the spirit, the city is the world of bodies." ## Mu kyalo awali ebimera y’ensi y’omwoyo. Ekibuga y’ensi y’omubiri.” This made 'Abdu'l-Bahá very sad ## Kino kyanakuwaza nnyo 'Abdu'l-Bahá, and so He went outside the wall ## era kye yava agenda ebweru wa bbugwe w’ekibuga and found a house for Bahá'u'lláh in the green countryside. ## n’afunirayo Bahá'u'lláh ennyumba eyali mu kyalo omwali ebimera ebigimu obulungi. Because all the men loved Bahá'u'lláh ## Abantu bonna baayagalanga nnyo Bahá'u'lláh, no one said this was forbidden. ## era tewali n'omu yanyega kubanga ekintu nga kino kyali tekikkirizibwa. So 'Abdu'l-Bahá went to His Father ## 'Abdu'l-Bahá kye yava agenda eri Kitaawe and said, "All is ready for You, ## n’amugamba nti: "Buli kimu kikulindiridde. I have prepared a house in the country. ## Nkutegekedde ennyumba mu kyalo. Bahá'u'lláh replied, "I am a prisoner, I cannot go." ## Bahá'u'lláh yamuddamu nti, “Ndi musibe, noolwekyo siyinza kugenda." Three times 'Abdu'l-Bahá went to a wise man ## 'Abdu'l-Bahá yagenda emirundi essatu ew’omusajja omugezigezi who was a great friend of Bahá'u'lláh and said, ##  eyali mukwano gwa Bahá'u'lláh ennyo n’amugamba nti, "You go and ask My Father to leave this city ## Nkusaba ogende eri Kitange omusabe ave mu kibuga and do not leave Him until He consents. ## era tomuvaako okutuusa ng’akkirizza. This wise man went and sat at Bahá'u'lláh feet ## Omusajja oyo omugezigezi yagenda n'avunnama ku bigere bya Bahá'u'lláh, and kissed His hands and said, ## n’anywegera emikono Gye era n'amugamba nti, "Why do You not leave the city?" ## "Lwaki tova mu kibuga kino?” Bahá'u'lláh said, "I am a prisoner." ## Bahá'u'lláh n’amuddamu nti, "Ndi musibe." The wise man said, "You are not a prisoner. Who can make You a prisoner? ## Omusajja omugezigezi kwe kumugamba nti, "Toli musibe. Ani ayinza okukusiba? You have kept Yourself in this prison ## Ggwe weekuumidde mu kkomera lino and now I beg of You to come out. ## era kaakano nkusaba oliveemu. Every time the man said this, ## Buli kiseera omusajja oyo lwe yayogeranga ebigambo ebyo, Bahá'u'lláh answered, "I am a prisoner", ## Bahá'u'lláh yaddangamu nti, "Ndi musibe”, and the wise man took His hands and kissed them. ## era omusajja omugezigezi yamukwatanga mu ngalo n’azinywegera. For an hour he remained this way begging Bahá'u'lláh to come out. ## Yamala essaawa namba nga yeegayirira Bahá'u'lláh afulume ekibuga ekyo. At last Bahá'u'lláh consented. ## Oluvannyuma ennyo Bahá'u'lláh yakkiriza. With great joy, the wise man went to 'Abdu'l-Bahá ## Olwo omusajja omugezigezi kwe kugenda, nga yenna ajjudde essanyu, n'ategeeza 'Abdu'l-Bahá and said Bahá'u'lláh has consented. ## nga Kitaawe bwe yali akkirizza okuva mu kibuga. The next day 'Abdu'l-Bahá took His Father to this house ## Olunaku olwaddirira, 'Abdu'l-Bahá yatwala Kitaawe mu nnyumba gye yali amulabidde, about an hour's journey outside the city walls. ## eyali yeesudde ebbanga lya lugendo lwa ssaawa ng'emu okuva mu kibuga. The chief men of the prison city said nothing ## Abakulu b'ekibuga tebaanyega for they all respected Bahá'u'lláh ## kubanga baali bamussaamu nnyo ekitiibwa, Who in their eyes was like a king. ## era mu maaso gaabwe yali nga kabaka. A few years later 'Abdu'l-Bahá found a bigger house for His Father ## Nga wayiseewo emyaka mitono, 'Abdu'l-Bahá, yanoonyezaayo Kitaawe ennyumba endala enneneko nearer the city and He went to live there ## eyali okumpi n'ekibuga era Bahá'u'lláh and in the end He died there ## n’abeera mu nju eyo okutuusa lwe yafa, and His body was buried in that beautiful spot in the country. ## era n'aziikibwa mu kitundu ekyo ekyali kirabika obulungi. 055 Bahá'u'lláh was a prisoner of the wicked king until He died. ## Bahá'u'lláh yali musibe wa kabaka ono omubi ennyo okutuusizza ddala lwe yafa. But so great was His spirit, so great His gentleness, wisdom and love ## Wabula omwoyo Gwe gwali mugumu nnyo, obuwombeefu Bwe bwali bwa kitalo nnyo, ow’amagezi n’okwagala okungi ennyo that in whatever place His enemies put Him; ## bwatyo mu buli kifo abalabe Be gye baamuteekanga, the hearts of all the people would in the end turn to Him with love. ## emitima gy’abantu bonna ku nkomerero gyakyukanga ne gidda eri Ye. Throughout this land where the city of Akka is ## ## Okwetooloola ensi eno, Ekibuga Akka and which is called the Holy Land ## mwe kisangibwa era ekiyitibwa Ensi Entukuvu, and is the same land where Jesus Christ lived and died, ## era nga y’ensi y’emu Yesu Krisito mwe yabeeranga era mwe yafiira, the fame of Bahá'u'lláh grew. ## ettutumu lya Bahá'u'lláh mwe lyayitimukira. As the years went by conditions became better ## Emyaka bwe gyagenda giyitawo, embeera yagenda erongooka and the Bahá’ís who came from so far away ## era Ababahá’í abaavanga mu bitundu eby'ewala were allowed to visit Him and speak with Him. ## bakkirizibwanga okumukyaliranga n'okwogerako naye. Although two very powerful and evil kings were His enemies ## Newaakubadde bakabaka ababiri ab’amaanyi era ababi baali balabe Be, they could not put out His light ## tebaasobola tebaayinza kuzikiza kitangaala Kye and His Name was on all men's lips. ## era erinnya Lye lyabeeranga ku mimwa gy'abantu bonna. 056 Bahá'u'lláh spent much of His time ## Ebiseera bya Bahá'u'lláh ebisinga obungi during these years of the end of His life in prayer ## mu myaka gino egyali gisembayo mu bulamu Bwe yabimalanga mu kusaba and in writing books and letters to the Bahá’ís ## n'okuwandiika ebitabo n'ebbaluwa eri Ababáha’i and in speaking good words to the Bahá’ís who came to see Him. ## era n’okubuulira ebigambo ebirungi eri Ababahá’i abaagendanga okumulaba. He had suffered too much in His long life ## Yali abonyeebonye nnyo mu bulamu Bwe obwali obuwanvu and too many blows had been struck at Him and at those who followed Him and the Báb. ## era yali era Ye n’abagoberezi Be wamu n’abo aba Báb baali batuusiddwako ebibonoobono bingi nnyo. Sometimes He was very sad for His brother Yahya ## Ebiseera ebimu yabeeranga munakuwavu nnyo olwa muganda We Yahya was always working against Him with great hatred. ## okukontananga naye olutatadde n’obukyayi obw’amaanyi bwe yalina eri Ye. So terrible was this hatred ## Obukyayi bwe buno bwali bwa kabi nnyo that once he put poison in the drink of Bahá'u'lláh ## bwatyo lwali lumu yateeka obutwa mu ky’okunywa kya Bahá’u’lláh when they were living in the city of Adrianople ## bwe baali mu kibuga Adrianople and Bahá'u'lláh almost died. ## era Bahá'u'lláh yasimbayo kitooke. When Bahá'u'lláh was sent to Akka ## Bahá'u'lláh bwe yatwalibwa mu kibuga Akka, His brother Yahya was sent away to another city. ## ye muganda We Yahya yasindikibwa mu kibuga ekirala. But always his hatred was busy ## Wabula bulijjo obukyayi bwe bwali bukyesera and he wrote many letters to Iran ## era yawandiikanga ebbaluwa nnyingi mu Iran, and tried to turn the hearts of those who were once Bábís ## ng'agezaako okusekeeterera Bahá'u'lláh amukyayise abo bonna abaali Ababábí and now called themselves Bahá’ís against Bahá'u'lláh. ## era kaakano abayitibwa Ababahá’i. And now Bahá'u'lláh saw more trouble ahead of Him ## Era awo nno Bahá'u'lláh kwe kulengera obuzibu obwali bugenda okumweyoleka mu maaso eyo for He had another son from an other wife ## kubanga yali afunyeeyo omwana omulenzi omulala okuva mu mukyala omulala and this younger son was very jealous of 'Abdu'l-Bahá. ## era omwana ono omulenzi omuto yali akwatirwa nnyo 'Abdu'l-Bahá obuggya. 'Abdu'l-Bahá was like Bahá'u'lláh, ## 'Abdu'l-Bahá, yali afaanana Bahá'u'lláh,  good and wise and strong, ## nga w'amagezi, wa mpisa nnungi era omugumu, but this son was evil and plotted against his brother. ## wabula ate ye mutabani We ono teyali bwatyo. Yali mwonoonefu era yabeeranga mu kulukira muganda we nkwe. All this Bahá'u'lláh saw like a dark shadow ## Ebyo byonna Bahá'u'lláh yabiraba ng’ekisiikirize ekikwafu which He knew would grow after His death ## kye yamanya nti kyali kigenda kweyongera okubaawo oluvannyuma lw'okufa Kwe and cause great sorrow to His beloved son, 'Abdu'l-Bahá, ## era kireetewo obuyinike obw’amaanyi eri mutabani We omwagalwa, 'Abdu'l-Bahá, who was to be His successor. ## eyali agenda okubeera omusika We. He knew that wherever there is a great man, ## Yakimanya nti buli lwe wabeerawo omuntu ow’amaanyi, little men will try to destroy him out of envy ## abantu abalala abatamwenkana bagezaako nnyo okwagala okumuzikiriza olw’okumukwatirwa obuggya, and His heart was sad for the future. ## era omutima gwajjuzibwa ennyiike olw’ebiseera eby’omu maaso. 057 During the last years of Bahá'u'lláh life ## Mu myaka egyasembayo mu bulamu bwa Bahá'u'lláh, a famous Englishman asked to see Him ## omusajja Omungereza omwatiikirivu yasaba okumulaba and he wrote down what he heard and saw. ## era oluvannyuma yawandiika bye yawulira ne bye yalaba. He said, "I was taken into a room ## Yagamba bwati, "Natwalibwa mu kisenge ekimu and my heart leaped with wonder and awe ## era omutima gwange ne gukubagana olw’okwewuunya n'okutya when I saw this room was not empty ## bwe nalaba ng'ekisenge ekyo tekyali kikalu but in a corner sat a wonderful and dignified old Man. ## wabula nga mu nsonda yaakyo mwalimu Omusajja omukadde ddala era ow'ekitiibwa. On His head was a tall hat and wound about it a white scarf. ## Ku mutwe Gwe kwaliko enkufiira empanvu eyali ezingiriddwako ekitambaala ekyeru. I cannot put into words the face of this Man ## Siyinza kunnyonnyola nfaanana ya maaso Ge although I can never forget His face. ## newaakubadde nga sigenda kugeerabira n'akamu. His eyes seemed to look into my heart. ## Amaaso Ge gaalabika ng’agaali gatunudde munda mu mutima gwange. Great power and great authority were on His forehead. ## Mu kyenyi Kye mwalabikiramu amaanyi n'obuyinza eby’ekitalo. Although His face was lined with age ## Newaakubadde ng’obwanga Bwe bwalimu enkanyanya olw’obukadde, His long hair and His long beard which came almost to His waist ## enviiri Ze empanvu ne’ekirevu Kye ekyaali ekiwanvu ddala era nga kumpi kituuka mu kiwato Kye, were full and black as night and were like a young man's. ## byali biggumivu bulungi era nga biddugavu bulungi okufaanana eby’omuvubuka. I did not need to ask in whose presence I was ## Kyali tekinneetaagisa kubuuza ani gwe nnali mu maaso Ge as I bowed low before this Man Who is so much loved ## wabula nakutama bukutami ne nvunnama mu maaso g’Omusajja Ono ayagalibwa ennyo abantu ekyandiviiriddeko that kings can envy His greatness ## ne bakabaka okumukwatirwa obuggya olw’ekitiibwa Kye and sigh because they have no such power as He has. ## era n’okussa ebikkowe kubanga tebalina buyinza nga Ye bw’alina. A gentle and fine voice asked me to sit down and then He said, ## Eddoboozi ery'eggonjebwa era eddungi lyansaba okutuula wansi, era Ye yayogera bwati, 'You have come to see a Prisoner, a Man exiled from His country. ## "Ozze okulaba Omusibe, Omuntu eyawaŋŋangusibwa okuva mu nsi Ye. I want nothing but good for the world ## Nze ssirina kye njagala wabula ensi yonna okufuuka ennungi and happiness for the nations ## n’amawanga gonna okubeera mu ssanyu, and yet men say of Me I make trouble ## naye ate bo abantu banjogerako nti Nze nzize kubalabya nnaku and I am against the government ## era nti ngezaako okuwakanya gavumenti and therefore I deserve to be a prisoner ## era noolwekyo kiŋŋwanidde Nze okubeera omusibe and exiled from My home. ## era n’okuwaŋŋangusibwa okuva mu maka gange. I desire only that all nations should become one in belief ## Okwegomba kwange Nze kwe kulaba ng’amawanga gonna gabeera n'enzikiriza emu and all men like brothers ## era n’abantu bonna babeere ng’abooluganda and that love and peace between the sons of men should become strong ## era nti okwagalana n'eddembe wakati mu baana b'abantu bisaana okunywezebwa and that the difference between what one religion and another religion believes ## era nti enjawukana eziriwo wakati w'ekyo eddini emu n’endala kye zikkiririzaamu should be taken away ## bisaana okuggibwawo and the hatred of men of one color for men of another color or tribe should stop. ## era n’obukyayi obw’abantu aba langi emu bwe balina ku bantu aba langi endala oba ab’eggwanga eddala busaana okukomezebwa. Is there any evil in this? ## Waliwo okwonoona mu kino? So it shall be. ## Kale bwekityo bwe kiriba. The terrible wars among men and the waste these wars cause shall cease. ## Entalo ez’entiisa wakati mu bantu n’okwnoona kwe zireetawo bijja kuggwawo. Is this not what the people in your land need? ## Kino si ky’ekyo abantu ab’omu nsi yo kye baagala? Is this not what Jesus Christ promised would come about? ## Kino si ky’ekyo Yesu Kristo kye yasuubiza okubaawo? Yet we see the kings and chiefs everywhere ## Naye nno tulaba bakabaka n’abakulira ebitundu bonna spending their money for weapons to destroy all men ## ng’ensimbi zaabwe bazimalira mu kugula byakulwanyisa ebizikiriza abantu bonna and not on things that will make men happy. ## mu kifo ky’ebintu ebyo ebiyinza okuleetawo essanyu mu bantu. These wars, this bloodshed and dispute must stop ## Entalo zino, okuyiwa omusaayi kuno, n'emirerembe biteekwa okukomezebwa, and all men live as brothers, as one family. ## olwo abantu bonna babeere ng'abooluganda era ab’enju emu. In this day no man must say, ## Mu biseera bino tewali muntu yenna ateekwa okugamba nti, 'I am proud this is my land and I love only my land.' ## ‘neenyumiriza kubanga eno nsi yange era eno ensi yange yokka gye njagala. He must say 'I love all men'. ## ‘Ateekwa okugamba nti, ‘Abantu bonna mbaagala’. 058 Bahá'u'lláh was 75 years of age when He died. ## Bahá'u'lláh yali aweza emyaka 75 egy'obukulu we yafiira. He was ill for a little while ## Yalwalira akaseera katono era olunaku lumu, and then one day He called His family to Him ## yayita ab'omu maka Ge bonna ne bajja we yali and said goodbye and told them not to grieve for Him. ## n'abasiibula era n’abakuutira obutamukungubagira. The glorious sun set ## Enjuba ey'ekitiibwa yagolooba but only His body passed from the eyes of men into the ground. ## naye mubiri Gwe gwokka gwe gwava mu maaaso gaabwe ne guziikibwa mu ttaka. His spirit goes on shining and is the light of this new day. ## Omwoyo Gwe gukyeyongera okwakaayakana era kye kitangaala eky’olunaku luno olupya. He wrote for all the Bahá’ís to read His last wishes ## Yawandiikira Ababahá’i bonna basome ebyasembayo bye yali ayagala bamanye and He made His beloved eldest son 'Abdu'l-Bahá His successor. ## era n’alaamira mutabani We omukulu omwagalwa, 'Abdu'l-Bahá, okubeera omusika We. He said all things that are not clear ## Yagamba nti ebintu byonna ebitaali birambulukufu bulungi you must ask 'Abdu'l-Bahá ## biteekwa kubuuzibwanga ‘Abd’ul-Bahá for He will answer you with the truth. ## kubanga ye yali agenda okubaanukula n’amazima. Many hundreds of people came to His house ## Abantu bikumi na bikumi bajja awaali enju Ye when they heard He had died ## bwe baawulira nti Bahá'u'lláh yali afudde and they camped in the country about ## era ne bagumba mu kyalo ekyetooloddewo and mourned with His family and with the Bahá’ís ## ne bakungubagira wamu n’ab’omu maka Ge era wamu n’Ababahá’i because a great Man of God had now left them ## kubanga Omuntu wa Katonda omukulu ennyo bwatyo yali abaleseewo and gone to the world of spirits. ## era ng’agenze mu nsi ey'emyoyo. 059 We must now ask Who was Bahá'u'lláh? ## Kaakano tuteekwa okubuuza nti Bahá'u'lláh Ye yali ani? We can answer this by a picture. ## Tuyinza okuddamu ekibuuzo kino nga tukozesa ekifaananyi. Let us say a Great Chief exists in a far place in a land of spirits ## Ka tugambe nti waliwo Omufuzi ow’Amaanyi abeera mu kifo ekiri ewala eyo mu nsi y'emyoyo and this Great Chief is God Himself Who made all things. ## era nti Omufuzi Ono ow’Amaanyi ye Katonda Mwene Omutonzi w'ebintu byonna. This Great Chief has many Sons. ## Omufuzi Ono ow’Amaanyi alina Batabani Be bangi. His sons are the Great Men who are born into this world ## Batabani Be, be Basajja ab'Amaanyi mu nsi muno like other men but who talk with the Great Spirit of God ## ng'abantu abalala naye nga boogera n’Omwoyo wa Katonda ow’Amaanyi as other men do not. ## abantu abalala kye batasobola kukola. Each one of these Sons is sent by His Father ## Buli omu ku Batabani bano atumibwa Kitaawe to a different people at a different time ## eri abantu abatali ba ngeri zimu mu biseera eby'enjawulo according to the need and darkness and suffering of the people. ## okusinziira ku bwetaavu, ekizikiza n'okubonaabona kw'abantu kwe babeeramu. Each Son has a name, one is called Moses, one is called Buddha, ## Buli Mwana alina erinnya, omu ayitibwa Musa, omu Buddha, one is called Jesus Christ, one is called Muhammad, ## omulala Yesu Kristo, omulala n'ayitibwa Muhammad, one is called the Báb, one is called Bahá'u'lláh. ## omundi Báb ate n’omulala n'ayitibwa Bahá'u'lláh. There were many others. ## Waliwo n'abalala bangi. Each Son says: ## Buli Omu ku Baana ba Katonda abo agamba: "I have come from My Father to speak His words to you ## "Ntumiddwa Kitange okujja okubabuulira ebigambo Bye, and to help you and to tell you what is good and what is bad ## okubayamba era n'okubabuulira biki ebirungi na biki ebibi and what you must do now to be better and to be happy ## era n'ebyo bye muteekwa okukola kaakano musobole okufuuka abalungi n'okubeera abasanyufu that when you die your spirit may be at peace ## bwemutyo bwe mufa emyoyo gyammwe gibeere mu mirembe, and while you live you and your children may prosper." ## ate mu kiseera kino nga mukyali balamu, mmwe n'abaana bammwe musobole okukulaakulana." The words of these Sons are not Their words ## Ebigambo by'Abaana bano si byabwe nga Bo but messages from the Father of Them all. ## wabula bubaka bwonna obuva eri Kitaabwe. They are like pure water or pure metal. ## Bafaanana ng’amazzi amalongoofu oba ekyuma ekitagatikiddwamu kirala. Nothing of Themselves is in Them but only the will of Their Father. ## Mu Bo Bennyini temuli kintu kyonna wabula ekyo Kitaabwe Ye ky’ayagala. If the Son says, "Do what I tell you to do, because it is the truth, ## Singa Omwana agamba nti, "Mukole Nze kye mbagamba kubanga ge mazima, because I am the Messenger of My Father", He speaks truly. ## era kubanga Nze Mubaka wa Kitange", Ye abeera ayogedde mazima. And if the Son says I am My Father ## Era singa Omwana ayogera nti, "Nze Kitange and the words I speak are the words of My Father, ## era ebigambo Nze byenjogera bigambo bya Kitange, this is the truth too because Father and Son are one flesh and one will. ## gano nago gabeera mazima kubanga Omwana ne Kitaawe babeera mubiri gumu era ne bye baagala bibeera bye bimu. Jesus Christ often spoke this way. ## Enfunda nnyingi Yesu Kristo yakozesanga ebigambo bino. Once He said, "My Father tells Me to tell you", ## Olumu yagamba nti, "Kitange Ye ambuulira eby’okubagamba", and once He said, "He who has seen Me has seen My Father, ## era n'olulala n’agamba nti, “Oyo yenna alabe Nze, abeera alabye Kitange, for I and My Father are one. ## kubanga Nze ne Kitange tuli omu. This is all the truth. ## Gano gonna mazima. Bahá'u'lláh spoke in this same way, ## Ne Bahá'u'lláh naye yayogeranga mu ngeri y’emu, sometimes as the Son who brings the Father's message ## emirundi egimu ng’Omwana aleeta obubaka bwa Kitaawe and sometimes as the voice of the Father in the mouth Of His Son. ## ate emirundi egimu ng'eddoboozi ly’Omuzadde Taata nga liyisibwa mu kamwa ka Mutabani We. If we say the Father and His Sons are one flesh and one blood, it is true ## Bwe tugamba nti Taata ne Batabani Be babeera mubiri gumu n'omusaayi gumu, and if we say the Father is in His Sons ## gano nago gabeera mazima, era bwe tugamba nti Taata ali mu Batabani Be,  but each Son is different from the other Sons, ## naye nga buli Mwana wa njawulo okuva ku Baana abalala, this is also true. ## gano nago gabeera mazima. Thus all the Sons and Their Father are the same in one way ## Noolwekyo Abaana bonna ne Kitaabwe be bamu but in another way each Son is different from the Others. ## naye ate mu ngeri endala buli Mwana abeera wa njawulo okuva ku Baana abalala. The great Messengers of God are like the picture of this Father and His Sons. ## Ababaka ba Katonda ab’amaanyibalaga ekifaananyi ekya Taata Ono ne Batabani Be. 060 Suppose a chief has many sons ## Ka tugambe nti omwami w’ekitundu omu alina abaana be bangi and he sends his sons on different days at different times out to different villages ## era n’abatuma okugenda mu byalo eby'enjawulo mu nnaku ez’enjawulo ne mu biseera eby’enjawulo to carry his words. ## okutwalayo ebigambo bye. One son arrives at night time when all is dark ## Omwana omu atuukayo mu budde obw'ekiro ng’enzikiza ekutte and he says to the people of a village, "Light your lamps." ## n'agamba abantu b'omu kyalo ekyo nti, "Mukoleeze ettabaaza zammwe." Another son arrives at daytime ## Omwana omulala atuuka mu kyalo ekirala mu budde obw'emisana and he says, "Do not light your lamps." ## n'agamba abantu baayo nti, "Temukoleeza ttabaaza zammwe." Another son goes to a third village and he sees it is raining ## Omulala agenda mu kyalo ekyokusatu n'alaba ng’enkuba etonnya and he says, "Come into your homes and stay away from the rain." ## n'agamba abantu ab’omu kayalo ekyo nti, "Muyingire mu nnyumba zammwe enkuba ereme okubakuba." And a fourth son goes out to another village another day, ## Omwana owookuna agenda mu kyalo ekirala n’alaba ng’obudde bulungi and he sees the weather is fine and he says, "All men must go hunting." ## era n’agamba abaayo nti, "Abantu bonna bateekwa okugenda okuyigga.” Now let us say the men of these four villages meet ## Kaakano ka tugambe nti abantu ab'omu byalo ebyo ebina bakuŋŋaana and discuss among themselves the words of their chief ## ne bakubaganya ebirowoozo ku bigambo omwami w’ekyalo kyabwe which his sons brought them. ## by’abaweerezza ng'abiyisa mu batabani be. Some claim you must all light your lamps ## Abamu bagamba nti abalala bateekwa okukoleeza ettbaaza zaabwe for the message from the chief said so. ## kubanga obubaka obuva ew’omwami w’ekayalo bwebutyo bwe bugamba. Others claim this is untrue ## Abalala ne bakaayana nga bagamba nti kino si kituufu for the chief's son said we must put out our lamps. ## kubanga omwana w'omwami yabagamba nti ffenna twali tuteekwa okuzikiza ettabaaza zaffe. The others say neither is true ## Abalala bo ne bagamba nti ku ebyo byombi tekuli kituufu for the message came to us we must go and hunt, ## kubanga ffe obubaka bwe twafuna bwatutegeeza nga bwe tuteekwa okugenda okuyigga, and still others cry no, ## ate era abandi ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bagamba nti ekyo kikafuuwe, we must stay in our houses. ## ffenna tuteekwa okusigala mu mayumba gaffe. Have the sons of the chief lied? ## Abaana b'omwami bye baayogera byali bulimba? Has not each one faithfully carried his father's message ## Buli omu teyatuusa mu bwesimbu obubaka bwa kitaawe which was a wise counsel for the village on that day? ## obwalimu okubuulirirwa okw’amgezi ku lw’ekyalo ekyo mu kiseera ekyo?  We can see the truth of this. ## Tusobola okulaba amazima agali mu kino. But what we must see now ## Naye kye tuteekwa okulaba kaakano kye kino is that the same thing has happened in the world. ## nti ekintu ky'ekimu kye kyagwawo ne mu nsi yonna. Each time One of the Prophets Of God ## Buli mulundi omu ku Bannabbi ba Katonda came to a people He carried His Father's message truthfully to them. ## lwe yajjanga eri abantu yabatuusangako obubaka bwa Kitaawe mu mazima. But according to the need of each people the message was different. ## Naye obubaka bwabeeranga bwa njawulo okusinziira ku bwetaavu bw’abantu ab’omu kitundu ekyo. Now the Jewish people and the followers of Jesus Christ ## Bwebatyo nno Abayudaaya, abagoberezi ba Yesu Kristo, and of Muhammad and of Buddha and many others of these Messengers, ## aba Muhammad ne Buddha, n'abagoberezi b'Ababaka abalala fight among themselves and say, "You lie". ## balwanagana bokka na bokka nga bagamba nti, "Mulimba". This was not the message from God. ## Buno si bwe bwali obubaka okuva eri Katonda. The message was different. ## Obubaka bwali bwanjawulo. Bahá'u'lláh says this is foolishness and ignorance. ## Bahá'u'lláh agamba nti buno busirusiru era butamanya. All the Sons of the Father have told the truth ## Bonna Abaana ba Katonda bayogedde mazima and always the intention of the Father was the same, ## era bulijjo ekigendererwa kya Kitaabwe kibadde kye kimu, to take care of the people ## nga kino kwe kubudaabuda abantu, and guide them and make them happy. ## okubaluŋŋamya n'okubafuula ab’essanyu. Each Son according to the need and the time ## Okusinziira ku bwetaavu n’ekiseera, buli Mwana gave the message of the Father. ## yatuusanga ku bantu obubaka bwa Kitaawe. Why are men fighting over this? ## Lwaki abantu balwanagana olwa kino? Bahá'u'lláh says, "Let them cease fighting now ## Bahá'u'lláh agamba nti, "Abantu kibagwanidde okukomya okulwanagana kaakano and listen to My words for My words are today the words of God. ## era bawulirize ebigambo Byange, kubanga ebigambo Byange mu kiseera kino bye bigambo bya Katonda. 061 Bahá'u'lláh and the other Prophets of God ## Bahá'u'lláh ne Bannabbi ba Katonda abalala who are the beloved Sons of God ## nga bano be Baana ba Katonda abaagalwa sent by Him to lead and teach men, suffered very much. ## abaatumwa Ye okukulembera n’okuyigiriza abantu, baabonaabona nnyo. They were beaten, laughed at, ## Baakubibwa, baasekererwa, stoned, spat upon, ## baakanyugirwa amayinja, baawandulirwa amalusu, imprisoned, tortured and killed. ## baasibibwa mu makomera, baatulugunyizibwa, era ne battibwa. If They were not God's Messengers, ## Singa tebaali Babaka ba Katonda, how could They endure this? ## bandisobodde batya okugumira ebyo byonna? If They who were so wise were not sure God was with Them, ## Singa Abo abaali abagezi ennyo tebaali bakakafu nti Katonda yali wamu nabo, why should They accept this treatment? ## lwaki bakkiriza okuyisibwa obubi bwebatyo? If a man looks carefully at the lives ## Singa omuntu yeetegereza obulamu and the acts of these great Holy Men, ## n'ebikolwa by’Abantu bano Abatuukirivu ennyo, he will see They were indeed all the same and like true brothers. ## ajja kukiraba nti mu mazima baali bafaanagana era abooluganda ddala. For the sake of Their Father who sent Them ## Ku lwa Kitaabwe eyabatuma They accepted all the hard things men did to Them ## baagumira ebizibu byonna ebyabatuusibwako abantu, and in return They served men with love and devotion ## era mu kwebaza Bo ate baweereza abantu n’okwagala n’okwewaayo and delivered Their Father's messages. ## era ne babatuusaako obubaka bwa Kitaabwe. 062 Bahá'u'lláh wrote to the cruel king of Iran who imprisoned Him ## Bahá'u'lláh yawandiikira kabaka wa Iran ow’ettima eyamuteeka mu kkomera and said, "This Message is not from Me ## n’amugamba nti, "Obubaka buno tebuva eri Nze but from My Father, God, Who knows all. ## wabula buva eri Kitange, Katonda, Oyo amanyi byonna. He told me to speak His words to all men and because I obeyed ## Yaŋŋamba okubuulira abantu bonna ebigambo Bye, era kubanga Nze nnamugondera Ye, things have happened to Me which have made all good men weep. ## ntuusiddwako ebintu bingi ebireetedde abantu bonna abalungi okukaaba. I have not gone to school. I have not studied. ## Saasoma. I am like a leaf which the wind moves ## Nze nfaanana ng’ekikoola ekifuuyibwa empewo, and the wind is the will of God Who is the King Of all men. ## era ng’empewo eyo kwe kwagala kwa Katonda Oyo Kabaka w'abantu bonna. When the wind blows, can the leaf be still? ## Empewo bw'ekunta, ekikoola kiyinza okutereera awamu? No, the wind moves it as it blows ## Nedda, empewo ekiseetula ne kiva mu kifo we kibadde kubanga empewo bw’ekunta, for the leaf is as nothing in the presence of the wind. ## ekikoola tekirina maanyi gayinza kugaana kunyeenya. Can any man of his own will speak words ## Waliwo omuntu yenna ku lulwe ayinza okwogera ebigambo for which all men will persecute him? ## ebiriyinza okumuviiramu okuyigganyizibwa abantu bonna? I swear by God this cannot be. ## Ndayira mu linnya lya Katonda, kino tekiyinza kubeerawo. 063 Bahá'u'lláh like Jesus Christ served all men. ## Bahá'u'lláh, okufaanana Yesu Kristo, yaweerezanga abantu bonna. Many times He slept on the bare floor. ## Emirundi mingi Yeebakanga wansi ku ttaka okutaabeeranga kikunta kyonna. Many times He ate what He called the food from heaven which is hunger. ## Emirundi mingi yalyanga ebyo Ye bye yayitanga emmere eva mu ggulu ng’eyo y’emmere ey’okulumwa enjala. It was not His wish to suffer so much in life ## Tekwali kwesiimira Ye okubonaabona ennyo bwatyo mu bulamu, but like Jesus Christ He accepted the will of God ## wabula okufaanana nga Yesu Kristo, yagondera okwagala kwa Katonda which blew upon Him like a mighty wind. ## okwamukuntirako nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo. He said, "Whatever God sends to Me is the desire of My heart. ## Yagamba nti, “Byonna Katonda by'aweereza eri Nze by’ebyo byennyini omutima gwange bye gubeera gwegomba. If he sends Me poison I will say it is like honey ## Singa Ye alimpeereza obutwa, Nze ndigambanga nti bulinga omubisi gw'enjuki, and every bitter suffering I will drink ## era mu buli kubonaabona okungi, as if it were clear water. ## Nze ndibunywa nga bwe nnywa amazzi amalongoofu. Because the Spirit of God spoke through the mouth of Bahá'u'lláh, ## Kubanga Omwoyo wa Katonda yayogerera mu kamwa ka Bahá'u'lláh, He said: "Nothing can you see in Me but is from Him. ## kye yava agamba nti, "Tewali kye mulaba mu Nze wabula ekyo ekiva eri Ye. His beauty is My beauty. ## Obubalagavu Bwe bwe bubalagavu bwange Nze. He is Me and I am Him. ## Ye ye Nze nange Nze Ye. In My spirit is the truth ## Mu mwoyo Gwange mwe muli amazima and in Me you can see nothing but God." ## era mu Nze temuyinza kulaba kirala kyonna wabula Katonda." 064 What was the work of Bahá'u'lláh? ## Omulimu gwa Bahá'u'lláh gwali gutya? He said He came to this world ## Yagamba nti eyamuleeta mu nsi muno to make all the people live as brothers in peace. ## kwe kusobozesa abantu bonna okubeera mu mirembe ng'abooluganda. He said: "You are all the fruit on the same tree ## Yagamba bwati, "Mwenna mmwe muli bibala ebiri ku muti ogumu, and the leaves on the same branch. ## era amakoola agali ku ttabi erimu. No man must say, it is best ## Tewali muntu ateekwa okugamba nti ekisinga obulungi to love his own country or his own people. ## kwe kwagala ensi ye yokka oba abantu b'ensi ye bokka. He must say, the best thing of all ## Ateekwa ekisingira ddala obulungi is to love all men as brothers. ## kwe kwagala abantu bonna ng'abooluganda. 065 All the Messengers of God have foretold a day ## Ababaka ba Katonda bonna baalagula nti olunaku lulituuka mu biseera eby’omu maaso eyo when there should be peace everywhere. ## we walibeerawo emirembe wonna. But each One of Them said it would come in the future ## Wabula buli Omu ku Bo yagamba nti emirembe giribaawo mu biseera eby'omu maaso, when the Father Who is God Himself would come to earth ## Kitaffe nga y’Oyo Katonda Mwene bw’alijja ku nsi and judge the good and the evil men in the world, ## okulamula abantu abalungi n’ababi mu nsi yonna, rewarding the good men and punishing the evil men. ## olwo abalungi abawe empeera n'ababi ababonereze. Zoroaster who lived three thousand years ago said, ## Zoroaster, eyaliwo emyaka enkumi ssatu egiyise yagamba bwati, For all this time there would be conflict in the world ## Okumala ebbanga lino lyonna, walibaawo obukuubagano mu nsi yonna until the Man God Promised would be born ## okutuusa Omuntu Oyo Katonda gwe yasuubiza lw’alizaalibwa to save men from evil and give them peace. ## okulokola abantu okuva mu bibi era n’okubawa emirembe. Moses said His people, the Jewish people, would be persecuted ## Musa yagamba nti Abantu Be, Abayudaaya, baliyigganyizibwa and scattered far and wide and ruled over by others ## era basaasaanyizibwe e bule n’ebweya, era nti balifugibwa abantu ab'amawanga amalala until the time when the Man God Promised would be born ## okutuusa Omuntu Oyo Katonda gwe yasuubiza lw’alizaalibwa. and then they would be gathered together again in their own country ## Olwo nno baliddamu nate okukuŋŋaanyizibwa wamu mu nsi yaabwe and the Spirit of God would rule on earth. ## era Omwoyo wa Katonda Abayudaaya era Omwoyo gwa Katonda alifuga ku nsi. Jesus Christ said: "Do not think I am come to you to bring peace on earth. ## Yesu Kristo yagamba bwati: "Temulowooza nti Nze nzize Gyemuli okuleeta emirembe ku nsi. I bring not peace, but a spear. ## Sireese mirembe, wabula ekitala. And He said, "There will be wars and talk of wars and great suffering ## Era Yagamba nti, "Walibaawo entalo n'okuwaanyisiganya ebisongovu ku ntalo, wamu n'okubonaabona okw'ekitalo, until the Father Himself is born in the world. ## okutuusa Kitaffe Mwene lw’alizaalibwa mu nsi. Muhammad said, "Because of the evil ways of men ## Muhammad yagamba nti, "Olw’obubi bw’abantu, there will be evil in the world ## walibeerawo okwonoona mu nsi and God will punish men by putting hatred in their hearts ## era Katonda alibonereza abantu ng’ateeka obukyayi mu mitima gyabwe, and the Jewish people and the Christians will fight each other ## era Abayudaaya n'Abakristayo baliwalaŋŋana bokka na bokka until the day of Resurrection ## okutuusa ku lunaku olw’Okuzuukira when God will be born in the world and judge all men. ## lwe lulituuka Katonda lw’alizaalibwa mu nsi era aliramula abantu bonna. Bahá'u'lláh says He is the Promised Messenger, ## Bahá'u'lláh agamba nti Ye Mubaka wa Katonda eyasuubizibwa, the Spirit of God, the Father Who is now born in the world ## Omwoyo wa Katonda,Kitaffe Oyo azaaliddwa mu nsi, and He is the One all Prophets promised would come and bring peace to all men. ## era y'Oyo Bannabbi bonna gwe baasuubiza nti alijja okuleeta emirembe eri abantu bonna. Bahá'u'lláh not only said this ## Bahá'u'lláh teyayogera ebyo byokka but He told men how to make peace and how to live as brothers. ## wabula era yategeeza n'abantu ku ngeri gye bayinza okuleetawo emirembe n'okubeera ng'abooluganda. 066a Jesus Christ told the men who followed Him a story. ## Yesu Kristo yanyumiza abantu abaali bamugoberera olugero. He said there was a good man who gave a good piece of land ## Yabanyumiza nti waaliwo omusajja omulungi eyawa abantu be ettaka lye eddungi to his people to cultivate for him until he came home again. ## balirimireko okutuusa lw'alikomawo nate. But when he returned he found ## Naye bwe yakomawo n'asanga they had not taken care of his land and it was spoiled. ## ng'ettaka lye tebaalirabirira bulungi era nga lyali lyonoonese. Then he was very angry and sent all away. ## Yanyiiga nnyo era bonna n'abagobamu. Jesus Christ meant this world was the land ## Yesu Kristo kye yali ategeeza kiri nti ensi eno yonna ly'ettaka and that His followers would not obey Him and do as He said ## era nti abagoberezi Be baamuujeemera okukola nga Ye bwe yagamba, but in the end the Spirit of God would come and punish the evil men. ## naye nti ku nkomerero Omwoyo wa Katonda alijja okubonereza abantu ababi. Today is the day that Jesus Christ spoke of. ## Leero lwe lunaku Yesu Kristo lwe yayogerako. All men are suffering and being punished ## Abantu bonna bali mu kubonaabona n’okubonerezebwa because they did not do as He told them ## kubanga tebaakola nga bwe yabagamba, and this punishment is not yet finished. ## era ekibonerezo tekinnaba kuggwa. But Bahá'u'lláh said that now the end is near ## Naye Bahá'u'lláh yagamba nti kaakano enkomerero esembedde and the wars will stop and all men will live in peace. ## era entalo zijja kuggwawo olwo abantu bonna babeere mu mirembe. 066b If you light a lamp and put it on the ground, ## Bw'okoleeza ettabaaza n'ogiteeka wansi ku ttaka, around the bottom of the lamp will be a very black shadow. ## ekifo ekyetoolodde entobo yaayo wabeerawo ekisiikirize ekikwafu ennyo. All lights in this world have shadows, ## Emimuli gyonna mu nsi muno gibeera n'ebisiikirize, only the light of the sun in the sky has no shadow. ## naye ekitangaala ky'enjuba kyokka kye kitalina kisiikirize. So all life on this earth has its dark side. ## Bwebutyo n’obulamu bwonna ku nsi eno bulinamu oludda olubi. The great Prophets are the brightest lights in this world ## Bannabbi ab’amaanyi gye mimuli egisingira ddala okwakaayakana mu nsi eno yonna and Their lives have the darkest shadows around them, ## era obulamu Bwabwe bwetooloddwa ebisiikirize ebisingira ddala obukwafu; suffering, imprisonment, death, the hatred of Their enemies, ## okubonaabona, okusibibwa mu makomera, okuttibwa, obukyayi bw'abalabe Baabwe, the plots of Their envious relatives. ## n’enkwe z’abeŋŋanda Zaabwe ababakwatirwa obuggya. Bahá'u'lláh light was clear for all men to see. ## Ekitangaala kya Bahá'u'lláh kyali kyakaayakana nnyo abantu bonna okusobola okukiraba obulungi. But many men are like bats who hate the light. ## Wabula abantu bangi bafaanana ng’obuwundo obukyawa ekitangaala. He did all the Báb promised He would do. ## Yakola ebyo byonna Báb bye yasuubiza nti alibikola. He fulfilled the sayings of all the Great Men who came before Him. ## Yatuukiriza ebyo ebyayogerwa Abantu ab’Amaanyi bonna abaamusooka. His nature, His words, His books, all showed He came from God. ## Ekikula Kye, ebigambo Bye n'ebitabo Bye byonna biragira ddala nti Ye ava eri Katonda. He spoke to men of all things ## Yayogeranga eri abantu ku nsonga zonna and told men how they must live in their lives together ## era yabuuliranga abantu ku ngeri gye bayinza okutambuzaamu obulamu bwabwe nga bali wamu mu bulamu bwabwe and each man in his own heart. ## ne ku ngeri buli omu gyasaanidde okubeeramu mu mutima gwe. He made clear the sayings in the Bible and the books of other religions. ## Yalambulula amakulu g'ebyawadiikibwa mu Baibuli ne mu bitabo by'eddiini endala. He told men what would happen in the future ## Yababuulira abantu ebyo byonna ebiribaawo mu biseera eby'omu maaso era kaakano, and already after only one hundred years have passed, ## oluvannyuma lw'emyaka kikumi gyokka egyakayitawo, many of His words have come true. ## bingi ku bigambo bye bimaze okutuukirira. He knew all things, although He never went to school. ## Yamanya ebintu byonna, newaakubadde nga teyagendako mu ssomero. Wise men said, ## Abantu abagezigezi baagambanga nti, "Where does He get this knowledge that no man taught Him?" ## “Amagezi bwegatyo agajja wa Oyo nga talina muntu yenna eyamusomesa?” But the very wise men said, ## Wabula abantu bagezigezi ennyo baagambanga nti, "He gets His knowledge from God." ## “Amagezi ago agafuna okuva eri Katonda." 067 Bahá'u'lláh wrote that after He died ## Bahá'u'lláh yawandiika nti oluvannyuma lw’okufa Kwe, His followers must turn their faces to the One ## abagoberezi be bateekwa kutunuulira Omu Who had grown out of His roots. ## Oyo akuze okuva mu mirandira Gye. By this He meant His eldest son 'Abdu'l-Bahá. ## Okwogera bwatyo yali ategeeza mutabani We omukulu, 'Abdu'l-Bahá. Many times He made it clear ## Emirundi mingi yakirambululanga bulungi that 'Abdu'l-Bahá was to be His successor. ## nti 'Abdu'l-Bahá ye yali agenda okubeera omusika We. 'Abdu'l-Bahá was born in Teheran on May 23, 1844 A.D. ## 'Abdu'l-Bahá yazaalibwa mu kibuga Teheran nga May 23 mu 1844 A.D. on the same night when in a distant city called Shiraz ## mu kiro ky'ekimu mu kibuga ekyesudde ennyo okuva mu Teheran ekiyitibwa Shiraz, the Báb was telling that young stranger ## Báb mwe yali ng’abuulira omuvubuka ## gwe yali talabangako that He was the one he and his group have been waiting and watching for. ## Ye ye yali Oyo omuvubuka oyo ne banne gwe baali balindirira. He was given the name of Abbas ## Yaweebwa erinnya Abbas, but later in life He took the name of 'Abdu'l-Bahá ## wabula oluvannyuma Ye ne yeetuuma erinnya eddala, 'Abdu'l-Bahá, which means Servant of Bahá or Servant of the light. ## eritegeeza ‘Omuddu wa Bahá’ oba ‘Omuddu w'Ekitangaala’. 068 'Abdu'l-Bahá was a very intelligent child and old for His years. ## 'Abdu'l-Bahá yali mwana mugezi nnyo, era n’ebirowoozo Bye byali bya waggulu nnyo He had no time to be a child ## okusinga emyaka Gye. because when He was only eight ## Teyafuna mukisa kubeera ng’omwana omuto bweyandibadde kubanga bwe yali aweza emyaka munaana egy'obukulu, His Father was imprisoned in the terrible prison of Teheran called the black hole. ## Kitaawe yaggalirwa mu kkomera eryali ebbi ennyo mu Teheran eryayitibwanga ekinnya ekiddugavu. His house was attacked by an angry group of men ## Amaka gaabwe omwali Ye ne nnyina gaalumbibwa ekibinja ky’abantu abaali abanyiivu who robbed Him and His mother of everything they had. ## ne baanyagulula ebintu byabwe byonna. Although He was only a little boy ## Newaakubadde yali akyali mulenzi muto, He became the head of His family. ## yafuuka omukulu w’amaka ago. At this time He had a sister six years old and a baby brother. ## Mu kiseera kino yali alina mwannyina eyali aweza emyaka mukaaga egy’obukulu ne muganda We eyali omuwere. While His Father was in chains in prison ## Kitaawe bwe yali mu njegere mu kkomera, He went every day to the prison to see if His Father was still alive. ## yagendanga ku kkomera okulaba oba nga Kitaawe yali akyali mulamu. Sometimes He saw His Father brought out into the courtyard of the prison to get some air. ## Oluusi yalabanga Kitaawe ng’afulumizibwa n’aleetebwanga mu luggya lw'ekkomera okufuna ku mpewo. He saw He was so ill He could hardly stand. ## Yakiraba nti Kitaawe yalinga mulwadde nnyo bwatyo nga n’okuyimirira takusobola bulungi. His neck was swollen and wounded from the iron collar He was forced to wear. ## Obulago Bwe bwali buzimbye era nga buliko n’ebiwundu ebyamutuusibwako enjegere z’ekyuma ze yali awaliriziddwa okwambala mu bulago Bwe. This was a terrible sight for a young boy who loved His Father ## ## Kino kyali kya ntiisa nnyo eri omulenzi omuto eyali ayagala ennyo Kitawe, and He never forgot those days of suffering. ## era teyeerabiranga nnaku ezo ezaali ez’okubonaabona. When He returned to His home ## Bwe yabeeranga addayo eka, the boys in the street would throw stones at Him and curse Him. ## abalenzi be yayitangako mu kkubo baamukanyugiranga amayinja wamu n’okumukolimiranga. 069 In Baghdad when 'Abdu'l-Bahá was only nine years old ## 'Abdu'l-Bahá bwe yali ng’ali mu Baghdad, era ng’aweza emyaka mwenda gyokka egy'obukulu, He understood that His Father was the One the Báb had promised God would send. ## yakitegeera nti Kitaawe ye yali Oyo Báb gwe yasuubiza nti Katonda alimutuma. He kept this secret in His heart ## Ekyo yakikuuma ng’ekyama mu mutima Gwe because Bahá'u'lláh had not yet said, ## kubanga Bahá'u'lláh yali tannaba kwogera nti, I am the One the Báb promised. ## "Nze Mubaka Báb gwe yasuubuza." 'Abdu'l-Bahá loved His Father more than ever ## 'Abdu'l-Bahá yayagala nnyo Kitaawe n’okusinga bulijjo because He knew He was one of the great Messengers of God. ## kubanga yamanya nti yali omu ku Babaka ba Katonda ab’amaanyi. When Bahá'u'lláh went away for two years ## Bahá'u'lláh bwe yeewungulako okuva mu maka Ge okumala ebbanga lya myaka ebiri, 'Abdu'l-Bahá again became the head of His family ## 'Abdu'l-Bahá nate yeetikka obuvunaanyizibwa obw’okulabirira amaka, and had to take His Father's place ## era yalina okudda mu bigere bya Kitaawe even though He was not yet a man. ## newaakubadde yali tannaba kusajjakula. He spent much time in prayer and thought ## Ebiseera Bye ebisinga yabimalanga mu kusaba n'okulowooza, and He memorized many of the things the Báb had written. ## era n’okukwata obukusu bingi ku bintu Báb bye yawandiika. When Bahá'u'lláh returned from the wilderness to Baghdad ## Bahá'u'lláh bwe yakomawo okuva mu ddungu gye yali eyo mu Baghdad, 'Abdu'l-Bahá spent all His time serving ## mutabani We 'Abdu'l-Bahá ebiseera Bye byonna yabimala ng’aweereza and watching over His beloved Father. ## n’okulabirira Kitaawe omwagalwa. As the years passed, He became His Father's shield and staff ## Emyaka bwe gyagenda nga giyitaawo, yafuuka engabo ya Kitaawe era omuggo Gwe, and did much work for Him. ## era yamukoleranga emirimu mingi. He received those who came to see Bahá'u'lláh ## Yayanirizanga abantu abajjanga okulaba Bahá'u'lláh, and if they were seeking the truth He took them to Him ## era abantu abo bwe baabeeranga banoonya mazima, yabatwalanga ne basisinkana Kitaawe, but if their desire was unimportant He did not let them trouble His Father. ## naye bye baalinga baagala bwe bitaabeeranga bikulu, teyabakkirizanga kuteganya Kitaawe. 'Abdu'l-Bahá's wisdom was so great ## Amagezi ga ‘Abdu’l-Bahá gaali waggulu nnyo that when He was only fifteen or sixteen years of age ## bwatyo bwe yali ng’aweza emyaka kkumi n'etaano oba kumi na mukaaga gyokka egy'obukulu, His Father one day turned to Him ## olunaku lumu Kitaawe and told Him to answer the question of a famous man ## yamusaba okwanukula ekibuuzo ky'omusajja omututumufu who was visiting Him. ## eyali azze okumukyalira. 'Abdu'l-Bahá wrote the answer ## Ekibuuzo ekyamubuuzibwa 'Abdu'l-Bahá yakiddamu mu buwandiike, and the man was astonished that a boy could be so wise and know so much. ## era omugenyi yeewuunya nnyo okulaba nti omulenzi obulenzi yandiyinzizza okubeera ow’amagezi bwegatyo n’okumanya ebintu ebingi bwebityo. Many people heard of this ## Abantu bangi kino baakiwulirako and the writing of 'Abdu'l-Bahá was given into many hands. ## era ebiwandiiko bya 'Abdu'l-Bahá byasomebwa abantu bangi. He would discuss many things with the religious leaders ## 'Abdu'l-Bahá yakubaganyanga ebirowoozo n'abakulembeze b'eddiini and wise men and all men marvelled at this Boy who had never gone to any school ## wamu n’abantu abagezigezi ku bintu bingi era abantu bonna baasamaalirira okulaba Omulenzi ono eyali tagendangako mu ssomero but received His wisdom from His Father alone. ## wabula eyafuna amagezi Ge yalina okuva Kitaawe yekka. 070 When Bahá'u'lláh was ordered by the evil king to leave Baghdad ## Mu kiseera kabaka omwonoonefu we yagobera Bahá'u'lláh ave mu Baghdad, 'Abdu'l-Bahá was nineteen years old. ## 'Abdu'l-Bahá yali aweza emyaka kkumi na mwenda egy'obukulu. He was the first one to publicly fall at His Father's feet ## Yeyasooka okuvuunama ku bigere bya Kitaawe mu lujjudde and say He accepted Him as the One ## era n’alangirira nga Ye bw’akkirizza nti amukkirizza Ye ng’Oyo the Báb had promised God would send to the world ## Báb gwe yali yasuubiza nti Katonda alimuweereza mu nsi, although already ten years earlier He had recognized His Father as That One. ## newaakubadde ng’emyaka kkumi emabega 'Abdu'l-Bahá yali amaze okutegeera nti Kitaawe ye Yali Omubaka Oyo eyayogerwako. From this time until the end of Bahá'u'lláh life ## Okuva mu kiseera kino okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwa Bahá'u'lláh,  'Abdu'l-Bahá took from His Father's shoulders ## 'Abdu'l-Bahá yatikkula Kitaawe omugugu all the work that He could. ## gw’emirimu gyonna gye yasobolanga okukola. It was 'Abdu'l-Bahá who did everything for the family ## Yali 'Abdu'l-Bahá eyavunaanyizibwanga ku bintu byonna ebikwata ku bantu ab’omu nju and for the household and who saw the chief men ## ne ku by’omu maka era ye yasisinkananga abaami abakulira balala and made all the plans so that Bahá'u'lláh could be free ## era n’okukola enteekateeka zonna kisobozese Bahá’u’lláh okuwewulwa for His great work of telling all men ## ku ddimu eddene ery'okubuulira abantu what the Spirit of God said to Him ## Omwoyo wa Katonda kye gwamutegeeza and how they must live and act to be better and happier men. ## era n’engeri gye bateekwa okutambuzaamu obulamu n’okweyisaamu basobole okweyongera okubeera abantu abalungi era abasanyufu. 071 'Abdu'l-Bahá was often called the "Master" by Bahá'u'lláh and by everyone. ## Enfunda nnyngi Bahá'u'lláh n'abantu abalala, ‘Abdu’l-Bahá baamuyitanga "Omkulu". He was very beautiful. ## 'Abdu'l-Bahá yali mubalagavu nnyo. His hair was long and black and curly and He had blue eyes. ## Enviiri Ze zaali za masadde, empanvu era nga nzirugavu, n'amaaso Ge nga ga bbululu. He was so kind to the poor and the sick ## Yali wa kisa nnyo eri abaavu n'abalwadde that in Akka they called Him "the Father of the poor". ## era bwebatyo abantu ab'omu kibuga Akka kye baava bamutuuma “Taata w’abankuseere”. When all were ill it was 'Abdu'l-Bahá who nursed them ## Bonna bwe baalwalanga, Abdu'l-Bahá ye yabajjanjabanga and was their doctor. ## era nga ye yali omusawo waabwe. His fame spread among the people and He was loved by all. ## Ettutumu Lye lyasaasaana wakati mu bantu era yayagalwa bonna. 072 In Akka 'Abdu'l-Bahá married a girl who had come from Iran ## Mu Akka 'Abdu'l-Bahá, yawasa omuwala eyali avudde mu Iran with her brother to see Bahá'u'lláh. ## ne mwannyina abaali bazze okulaba Bahá'u'lláh. She was of an old family of Bábís ## Omuwala oyo yali ava mu maka g'abantu ag’Ababábı ba kaasangwawo and many of her relatives had been put to death ## era bangi ku b’eŋŋanda ze baali battiddwa because they followed the Báb. ## kubanga baali bagoberezi ba Báb. Of this marriage of 'Abdu'l-Bahá four daughters survived. ## Mu bufumbo buno obwa ‘Abdu’l-Bahá n’omuwala ono, abawala bana be baasigalawo. 073 Long before Bahá'u'lláh died all ## Ebbanga ddene okutuuka ku kiseera Bahá'u'lláh we yafiira, the Bahá’ís knew that 'Abdu'l-Bahá was like His Father. ## Ababahá’í baali bakimanyi nti 'Abdu'l-Bahá yali afaananira ddala Kitaawe. Bahá'u'lláh often mentioned Him as the Centre of His Covenant, ## Enfunda nnyingi Bahá'u'lláh yamuwogerangako ng’Entabiro y’Endagaano Ye, the Mystery of God, the Most Great Branch, ## Ekyama kya Katonda, Ettabi Essukkulumu, the Branch that had grown from His root. ## Ettabi eryatutumuka okuva ku mulandira Gwe. He called Him the Master and insisted everyone show Him great respect ## Yamutuuma erinnya “Ssenkulu” era yakikkaatirizanga nti buli omu asana okumussaamu ekitiibwa ekingi, and when He died and His last wishes were read, ## era bwe yafa era n’ekiraamo Kye nga kimaze okusomebwa, in them He said all must turn to 'Abdu'l-Bahá. ## mu kyo nga Ye mwe yagambira nti bonna bateekwa okweyuniranga 'Abdu’l-Bahá. 074 'Abdu'l-Bahá had three positions. ## 'Abdu'l-Bahá yalina ebifo bisatu. He was the chief of all the Bahá’ís everywhere. ## Ye yali omukulembeze w'Ababahá’i wonna. He alone had the right to interpret the words of His Father ## Ye yekka eyalina obuyinza okuvvuunula amakulu g'ebigambo bya Kitaawe and say what the true meaning was ## era n'okuwa amazima gaabyonga bwe gaali. and He was the perfect example in His character for all men to imitate. ## Yali kya kulabirako ekituukiridde eky’empisa za Kitaaweera era abantu bonna kye baali basaanira okuyigirako. The work of 'Abdu'l-Bahá was not easy. ## Omulimu gwa 'Abdu'l-Bahá tegwali mwangu. For all His life He had been close to His wonderful Father. ## Obulamu Bwe bwonna yali wa kulusegere lwa Kitaawe eyali ataali muntu wa bulijjo. Now His Father had gone to the world of spirits ## Kaakano Kitaawe yali amaze okugenda mu nsi ey’emyoyo and left Him alone to carry on His work. ## era ng’amulekedde okutwala mu maaso omulimu Gwe. As Bahá'u'lláh had been persecuted ## Mu ngeri y’emu nga Baha'u'ilah bwe yayigganyizibwa by the hatred and envy of His half brother ## olw’obukyayi n’enge ebya mutabani wa Kitaawe gwe yazaala mu mukyala omulala, so was 'Abdu'l-Bahá now persecuted ## bwatyo ne 'Abdu'l-Bahá naye yayigganyizibwa by the hatred and envy of His own younger half brother who was called Muhammad Ali. ## obukyayi n’enge ebya muganda We omuto, eyali ayitibwa Muhammad Ali, Kitaawe gwe yazaala mu mukyala omulaala. Year after year He worked against 'Abdu'l-Bahá, ## Mwaka ku mwaka, Muhammad Ali yeeyongeranga okuwalana 'Abdu'l-Bahá, blackening His name ## ng’asiiga erinnya Lye enziro and even trying to kill Him in his terrible jealousy. ## era yatuuka n’okugezaako okumutta olw'obuggya obungi bwe yalina. 075 This evil brother made every good act of 'Abdu'l-Bahá ## Okumanya nga Muganda wa ‘Abdu’l-Bahá ono yali mubi, buli kikolwa ekirungi ‘Abdu’l-Bahá look like a bad act to the chief men. ## kye yakolanga yakifuulanga ekibi eri abaami abakulembeze. After the Báb was killed ## Oluvannyuma lw'okuttibwa kwa Báb, and His body was secretly saved by the Bábís ## omulambo Gwe gwanunulibwa ne gukuumibwa Ababábı mu kyama at the instruction of Bahá'u'lláh. ## nga bagoberera ebiragiro bya Bahá'u'lláh. It was kept in secret hiding places known to Bahá'u'lláh ## Gwakuumibwa nga gukwekeddwa mu bifo eby’ekyama ebyali bimanyiddwa Bahá'u'lláh and only a few trusted men for over fifty years. ## n'abantu abalala abatono bokka abaali abeesigwa okumalira ddala ebbanga eryali lisukka mu myaka ataano. All the time they worried over this precious body, ## Ebiseera byonna beeraliikiringa olw’omulambo guno ogw’omuwendo, afraid the enemies would find it and destroy it. ## nga batya nti abalabe baabwe bandiguzuula ne baguzikiriza. In the years when Bahá'u'lláh was able to leave the prison city of Akka and go into the country. ## Mu myaka egyo Bahá'u'lláh mwe yasobolera okugenda mu kyalo ng’avudde mu kibuga ky’ekkomera, ‘Akká. He visited more than once ## Emirundi egyali gisukka mu gumu, the town of Haifa which is about four hours distance by walking from Akka. ## yakyalako mu kibuga Haifa ekiri mu bbanga lya ssawa nga nnya okuva mu ‘Akká singa omuntu abeera atambuzza bigere. There He showed to 'Abdu'l-Bahá a place ## Mu kibuga ekyo yalaga ‘Abdu'l-Bahá ekifo half-way up the side of the mountain ## ekiri wakati w'olugulungujjo lw'olusozi olunene, overlooking the water of the sea between Haifa and Akka and said, ## olw'olekedde ennyanja eri wakati w'ebibuga Haifa ne Akka era yamugamba bwati, Buy this spot ## Ogulanga ekifo kino, and bring from Iran the body of the Báb and bury Him here in a tomb. ## era oletanga omulambo gwa Báb okuva mu Iran, n’oguziika mu ntaana. 'Abdu'l-Bahá after His Father died thought only of obeying His wish. ## Oluvannyuma lwa Kitaawe okufa, 'Abdu'l-Bahá teyalowoozanga ku kirala kyonna wabula okutuukiriza ekyo Kitaawe kye yali ayagala. He bought the land with great difficulty ## Yagula ettaka mu bizibu obutagambika, and in secret the body of the Báb was brought from Iran to Akka. ## era mu kyama, omuburi gwa Bab gwaleetebwa mu lran okuva mu Akka. Then 'Abdu'l-Bahá began to build ## Olwo nno 'Abdu'l-Bahá kwe kutandika okuzimba a house with thick stone walls to bury the body in. ## ennyumba ey’ebisenge by’amayinja amagumu okuziikamu omubiri gwa Báb. But His evil half brother went to the chief men and said: ## Wabula olwalaba kino, muganda We omubi yadduka bunnambiro n'agenda eri abaami abakulembeze n'abagamba nti, "See, 'Abdu'l-Bahá is building a fortress ## "Mulabe. 'Abdu'l-Bahá azimba ekigo and He will bring guns there and defy the chief men ## era ajja kuleetamu emundu olwo alyoke ajeemere abaami abakulembeza and stir up the people against the king. ## era atabangule n'abantu okujeemera kabaka. The chief men believed this foolish talk ## Abaami abakulambeze nabo bakkiriza ebigambo bino eby'ekigwagwa and they commanded 'Abdu'l-Bahá to stay inside the walls of Akka ## era ne balagira 'Abdu'l-Bahá obutalinnya kigere Kye ebweru w’ebisnge bya Akka and not go about the country. ## era aleme n’okutaayaaya mu ebweru mu byalo. They made Him a prisoner again ## Baamufuula nate omusibe although for over twenty years ## newaakubadde ng'okumalira ddala ebbanga erisukka mu myaka amakumi abiri yali He had been permitted to move about freely. ## akkiriziddwa okutambula wonna nga bwe yali ayagala. For seven years ## Okumala ebbanga lya myaka musaanvu, He was again a prisoner with His family in Akka. ## nate yali musibe n'ab'omu maka Ge mu kibuga Akka. 076 So great was the fame of 'Abdu'l-Bahá ## Ettutumu lya 'Abdu'l-Bahá lyali lya maanyi nnyo, that even though He was imprisoned in Akka, ## era newaakubadde yali musibe mu ‘Akká, people from all over the world came to see Him. ## abantu bangi okuva mu bitundu eby’ensi yonna baakuluggukanga okujja okumulaba. Now they came from the west, ## Baavanga mu bugwanjuba, from England and America and other lands ## mu Bungereza, mu America ne mu bitundu ebirala because they had heard that in Akka ## kubanga baali bawulidde nti mu ‘Akká was a wonderful Prisoner Who spoke good words of truth. ## waaliyo Omusibe ow'ekitalo eyabuuliranga abantu ebigambo ebirungi eby'amazima. 'Abdu'l-Bahá also wrote many letters to people all over the world ## ‘Abdu’l-Bahá era yawandiikanga ebbaluwa nnyingi eri abantu mu nsi yonna and told them of Bahá'u'lláh and His words ## era n’ababuuliranga ebikwata ku Bahá'u'lláh n’obubaka Bwe. and encouraged them to be good and to work ## Yabakubiriza okubeera abantu abalungi wamu n’okukola that all men may become as loving brothers and live in peace. ## bwebatyo bonna basobole okufuuka ng’abooluganda era n’okubeera mu mirembe. 077 The life of 'Abdu'l-Bahá was spent in serving others. ## 'Abdu'l-Bahá obulamu Bwe bwonna yabumala mu kuweereza balala. For Himself He wanted nothing. ## Ye ku lulwe yali talina ky’ayagala. His clothes and His food were simple ## Ebyambalo Bye n’emmere Ye byali bya bulijjo and He gave generously to the poor. ## era yagabiriranga nnyo abanaku. Every Friday a crowd of poor and sick people would gather ## Buli Lwakutaano abanaku n’abalwadde baakuŋŋaananga mu bibinja and He would share with them the little that He had ## era yagabananga nabo ekitono kye yabeeranga nakyo and give them wise counsel for their sickness. ## wamu n’okubawa amagezi amalungi ku ndwadde zaabwe. Often He went to the homes of those who were very ill ## Enfunda nnyingi yagendanga mu maka abaalinga abalwadde ennyo and nursed them Himself. ## n'abajjanjaba Ye kennyini. Even those who hated Him He served with love and gentleness. ## N’abo abaali bamukyawa Ye yabaweerezanga mu kwagala n’eggonjebwa. He wrote to His friends and said, ## Yawandiikira mikwano Gye ng’agamba bwati, "Do not be sad because I suffer and I am in prison. ## "Temunakuwala kubanga Nze ndi mu kkomera era nga mbonaabona. This prison is for Me a paradise ## Ekkomera lino ku lwange Nze liringa olusuku lwa Katonda, and I am like a man seated on a throne amongst other men. ## era nfaanana ng’omuntu atudde ku nnamulondo wakati mu bantu abalala. My sufferings are My crown ## Okubonaabona Kwange y’engule yange Nze and I am proud of these sufferings. ## era neenyumiririza nnyo mu kubonaabona kuno. Any man can be happy when he is comfortable and well ## Omuntu yenna asobola okubeera omusanyufu bw'abeera obulungi mu bulamu obweyagaza and has pleasures to amuse him, ## era ng’alina ebirungi ebimuwa essanyu, but if a man is happy and contented ## naye singa omuntu abeera omusanyufu era omumativu when he is suffering and ill and all things go against him ## ng’ali mu kubonaabona n’obulwadde, era nga buli kintu kimugendera bubi, then is he a truly good and noble man. ## omuntu oyo mu mazima ddala muntu mulungi era wa kitiibwa. 078 During these seven years ## Mu bbanga lino ery'emyaka omusanvu when 'Abdu'l-Bahá was again a prisoner in Akka, ## 'Abdu'l-Bahá bwe yali nate omusibe mu ‘Akká, the wicked king who held Him prisoner ## kabaka omubi, eyali amusibidde mu kkomera, had heard the whisperings of his half brother ## yali awuliddeko ku ŋŋambo ezaali zikwata ku bigambo ebbibi ebyayogerwanga muganda wa 'Abdu'l-Bahá and he was stirred up in anger. ## era yanyiiga nnyo. He sent some chief men to Akka ## Yatuma abamu ku baami be mu Akka. to find out what 'Abdu'l-Bahá was doing. ## bagende balabe 'Abdu'l-Bahá kye yali akola The first thing these men did was to go ## Ekintu abaami abo kye baasookera ddala okukola and live in the house of 'Abdu'l-Bahá's enemies. ## kwali kugenda kusula mu maka g'abalabe ba 'Abdu'l-Bahá. How can you find out the truth about a man ## Ozuula otya amazima agakwata ku muntu if you go and sit with his enemies? ## bw'ogenda n'otuula n'abalabe be? 'Abdu'l-Bahá now was in great danger ## Bwatyo nno 'Abdu'l-Bahá yali ayolekedde akabi kanene ddala because these chiefs would return to their king ## kubanga abaami bano baali bajja kuddayo eri kabaka waabwe and tell all the lies they had heard ## bamubuulire eby’obulimba byonna bye baali bawulidde and cause 'Abdu'l-Bahá to be sent away ## era kino kyali kya kuviiramu 'Abdu'l-Bahá to a worse prison many months journey away ## okutwalibwa mu kkomera eddala erisinga obubi eryali mu bbanga ly'olugendo olutwala omwezi omulamba okutambula, or even cause Him to be killed. ## oba sinakindi n’okumuviiramu okuttibwa. But 'Abdu'l-Bahá was not afraid. ## Naye 'Abdu'l-Bahá teyalina kutya kwonna. His friends said, "Free! We will take You away secretly in a boat ## Mikwano gye baamugamba nti: "Dduka! Ffe tujja kukutwala mu kyama mu lyato and You will be safe". But He refused. ## mu kifo ky'onobeereramu obulungi." Naye Ye yagaana. He said, "Bahá'u'lláh did not run away ## Yabagamba nti: "Bahá'u'lláh teyadduka and the Báb did not run away. ## era ne Báb naye teyadduka. No matter what they do to Me I will not run away. ## Buli kyonna kye banankola, Nze sijja kudduka. He sent away from Akka most of the Bahá’ís ## Yalagira abagoberezi ba Bahá'u'lláh abasinga obungi okuva mu ‘Akká for He was afraid for their safety, ## kubanga yali yeeraliikirira obukuumi bwabwe, but He and His family remained. ## wabula Ye n'abantu ab'omu maka Ge baasigala. 079 Many times different groups of chief men came and went ## Emirundi mingi ebibinja by’abaami abakulembeze baayingiranga n'okufuluma ewuwe and each time they were filled with the words of'Abdu'l-Bahá's enemies. ## era buli mulundi bajjuzibwanga ebigambo by’abalabe ba 'Abdu'l-Bahá. In the end the last group went home to tell the king ## Ku nkomerero ekibinja ekyasembayo kyaddayo ewa kabaka ne kimutegeeza that they believed 'Abdu'l-Bahá should either be sent away once again ## nga bwe baali abamativu 'Abdu'l-Bahá bwe yali asaanidde okukyusibwa atwalibwe to a far off prison or be put to death. ## mu kkomera ery'ewala oba okuttibwa. All the friends and family of 'Abdu'l-Bahá were very sad. ## Abeemikwano n’abantu ab’omu nju ya 'Abdu'l-Bahá bonna baanakuwala nnyo. They thought any minute the order from the king would come ## Baalowooza nti ekiseera kyonna ekiragiro okuva ewa kabaka kyali kijja kutuuka and either He would be killed ## ‘Abdu’l-Bahá attibwe or they would never see Him again. ## oba baleme okuddayo okumulabako nate. But 'Abdu'l-Bahá was quiet ## Wabula Ye ‘Abdu’l-Bahá teyanyega kigambo kyonna and went His way the same as every day. ## era yagenda mu maaso n’okukola emirimu Gye nga bulijjo. He knew His life was in the hands of God ## Yali akimanyi bulungi nti obulamu Bwe bwali mu mikono gya Katonda and not of the wicked king who held Him prisoner. ## so si mu gya kabaka omubi eyamuteeka mu kkomera. And God protected Him ## Era Katonda yamukuuma because as soon as the chief men got home to the city of the king ## kubanga amangu ddala abaami abakulembeze nga baakatuuka mu kibuga kya kabaka waabwe, they found the people there had risen against the king ## baasanga abantu baamu nga bali mu keegugungo nga bajeemedde kabaka, and they themselves had to flee to save their own lives. ## olwo abaami nabo baateekako kakokola tondeka nnyuma okusobola okuwonya obulamu bwabwe. The king had no time now to think about 'Abdu'l-Bahá. ## Kabaka teyalina kiseera kulowooza ku 'Abdu'l-Bahá. He had to think about himself. ## Yalina kwefaako yekka. Within one year he was made a prisoner by his own people ## Mu bbanga lya mwaka gumu abantu be bennyini baamukaliga mu kkomera who had suffered much from his cruelty. ## kubanga baali babonyeebonye nnyo olw'obukambwe bwe. The new chiefs said, "Our king was very evil ## Abaami abaddawo baagamba nti, "Kabaka waffe yali mubi nnyo and for no reason he put in prison many good men who had done no wrong. ## era yasibira mu kkomera abantu bangi abalungi abataalina musango gwonna. No we will free all these men. ## Noolwekyo tujja kusumulula abantu bano bonna. They did this and 'Abdu'l-Bahá was set free. ## Kino baakikola era 'Abdu'l-Bahá yateebwa. For fifty-six years since He was eight years old ## Okumala ebbanga lya myaka ataano mu mukaaga okuva lwe yaweza emyaka omunaana, He had continually been in exile or in prison. ## ‘Abdu’l-Bahá yabeeranga mu buwaŋŋanguse oba mu kkomera. Now He was free for the first time ## Kaakano ali mu ddembe omulundi ogusooka, but He had become an old man with a white beard and white hair. ## naye nga yali omusajja akaddiye, ow’ekirevu n'enviiri ebyeruse. 080 After 'Abdu'l-Bahá was set free ## 'Abdu'l-Bahá bwe yamala okuva mu kkomera, He and His family went to live in Haifa. ## Ye n'ab'omu maka Ge baagenda ne basenga mu kibuga Haifa. Many Bahá’ís from many countries came to visit Him ## Ababahá’í bangi okuva mu nsi nnyingi bajjanga okumukyalira and the good words of Bahá'u'lláh spread ## era ebigambo bya Bahá'u'lláh ebirungi byeyongera okubuna farther and farther in the world. ## wonna mu nsi yonna. 'Abdu'l-Bahá decided to go ## 'Abdu'l-Bahá yasalawo okugenda and visit the lands to the west ## okukyalako mu nsi eziri mu bugwanjuba and in 1911 He set out on a long journey. ## era mu mwaka 1911, yessa mu ddene okugenda mu bitundu ebyo, ebyali ewala ennyo okuva mu Haifa. For two years and four months ## Okumala ebbanga lya myaka ebiri n'emyezi ena, He was away from His home and His family. ## 'Abdu'l-Bahá teyali mu maka Ge. In each city He went to, ## Mu buli kibuga kye yakyalangamu He told the people the Message of Bahá'u'lláh ## yabuuliranga abantu baamu Obubaka bwa Bahá'u'lláh and called upon all men to listen to these good words ## era n’abakubirizanga n’okuwulirizanga ebigambo Bye ebirungi and to make peace among themselves. ## wamu n’okukolereranga emirembe wakati waabwe. He said if you do not make peace now ## Yagamba nti singa tebakolerera mirembe, a worse war will come upon you. ## olutalo olubi okusinga ezo ezaali zibaddewo lwali lujja kubalukawo. He spoke to the chiefs and to the ordinary people. ## Yayogera eri abakulembeze wamu n’abantu aba bulijjo. He spoke in the churches and in great meeting places. ## Yayogereranga mu makanisa ne mu bifo ebikuŋŋaanirwamu. Everyone said this is a wise and good Man from the East ## Buli omu yagambanga nti Ono yali Musajja omugezigezi era omulungi okuva mu Buvanjuba and His words are good words. ## era n’ebigambo Bye byali bigambo birungi. But people are lazy. It is very easy to say, ## Wabula abantu bagayaavu. Kyangu nnyo okugamba nti, Yes, you are right, I agree with you, we should do that. ## Yee, oli mutuufu, nzikiriziganya naawe, kitugwanidde okukola bwetutyo. But to change from evil and selfish ways ## Naye okukyuka okuva mu bubi n’embeera ez’okwerowoozaako to good ways requires work and effort. ## okudda mu mpisa ennungi, kyetaagisa omulimu omunene ne kaweefube ow’amaanyi. The people did not want to struggle with themselves ## Abantu baali tebaagala kwemalako mirembe gyabwe and to work against the old ways. ## wamu n’okuleka embeera zaabwe ez’edda. So they admired and loved 'Abdu'l-Bahá but did nothing. ## Noolwekyo, newaakubadde beegogombanga n’okwagala 'Abdu'l-tebalina kyonna kye baakolawo okulongoosa ebikolwa byabwe ebibi. Only those who became Bahá’ís changed their ways ## Abo bokka abaafuuka Ababahá’í be baakyusa empisa zaabwe, but these were few at first ## naye mu kusooka baali batono nnyo and not enough to prevent the people from making war. ## era ne batayinza kuziyiza bantu kutandika lutalo. On year after He returned to His home ## Omwaka gumu oluvannyuma lw’okuddayo mu maka Ge, almost all these nations in the world went to war. ## kumpi amawanga gano gonna mu nsi yonna gantandika okulwanagana. This was the first great war from 1914 to 1918. ## Luno lwe lwali olutalo ssematalo oluberyeberye, olwabalukawo mu 1914 ne lukwajja okutuusiza ddala mu 1918. munafu 081 When the war came 'Abdu'l-Bahá was seventy years old. ## Olutalo bwe lwabalukawo, 'Abdu'l-Bahá yali aweza emyaka nsanvu egy'obukulu. He was very tired and ill after His long journey. ## Yali akooye era nga mulwadde nnyo oluvannyuma lw'okutambula olugendo oluwanvu ennyo. Every day He had seen many, many people. ## Buli lunaku yasisinkananga abantu bangi nnyo. He had spoken in many meetings, ## Yayogereranga mu nkuŋŋaana nnyingi, always giving to others the good things ## bulijjo ng’abuulira abantu ebintu ebirungi in His great mind and His loving heart. ## ebyavanga ku ntobo y’emmeeme Ye n’omutima Gwe ogwali gujjudde okwagala. Now He was exhausted. ## Kaakano yali ayenjebuse. He wrote a very sad letter to His friends in the West. ## Kye yava awandiikira mikwano Gye ab’omu Bugwanjuba ebbaluwa mu nnaku ey’ekitalo. He said: "Friends, the time is coming when I shall be no longer with you. ## Yagamba bwati: "Abeemikwano, ekiseera kinaatera okutuuka mbeere nga sikyali nammwe. I have done all that could be done. ## Nkoze kyonna ekibadde kisoboka okukolebwa. I have served Bahá'u'lláh all I could. ## Bahá'u'lláh mmuweerezza nga bwe mbadde nsobola. I have worked night and day all the years of My life. ## Nkoze emisana n'ekiro ebbanga lyonna ery'obulamu bwange. O! How I long to see ## Abange mmwe abaagalwa! Nnina okuyaayaana kungi nnyo okulaba the Bahá’ís do this work for God. ## nti Ababahá’i bakola omulimu gwa Katonda. Now is the time to tell all men the Kingdom of God is ready. ## Kino kye kiseera okubuulira abantu bonna nti Obwakabaka bwa Katonda buli bulindaala. Now is the time for union and peace. ## Kino kye kiseera eky'okubeera obumu ne n’emirembe. I turn My ears towards the east and the west, ## Nteze amatu gne ngoolekeza ebuvanjuba n’ebugwanjuba, towards the north and the south, ## ebukiikaddyo n’ebukiika kkono, hoping to hear the song of love and brotherhood coming from the Bahá’ís. ## nga nnina esuubi okuwulira oluyimba olw'okwagala n'obwa sseruganda oluva mu Babahá’í. My days are numbered ## Ennaku zange zibalirwa ku ngalo, and only hearing this song can give Me joy. ## era okuwulira obuwulizi ku luyimba luno kye kyokka ekinaayinza okumpa Nze essanyu. 082 When the many enemies of 'Abdu'l-Bahá, ## Abalabe ba 'Abdu'l-Bahá abangi, His half brother, the jealous leaders among the Christian ## nga muno mwe mwali muganda We ataali mwana wa nnyina, abakulembeze ab’obuggya ab’Abakristaayo and Muhammadan priests, the chiefs of the government ## n’abo ab’Abasiraamu, abakungu ba gavumenti who before had held Him a prisoner, ## abaali bamusibye mu kkomera, saw He was so weak after His long journey to the West ## bwe baalaba ng'omubiri Gwe gunafuye oluvannyuma lw'okutambula olugendo lwe yatambula okudda mu Buvanjuba, they were very happy for they thought now He will die. ## baasannyuka nnyo kubanga baalowooza nti yali ajja kufa mangu. But this was not to be. ## Naye nno kino tekyatuukirira nga bwe baali basuubira. 'Abdu'l-Bahá wrote to His friends, ##'Abdu'l-Bahá yawandiikira mikwano Gye bwati, "No doubt My body would not have been able to endure so much effort ## "Tewali kubuusabuusa omubiri gwange tegwandisobodde kugumira kaweefube ono eyali ow’amaanyi bwatyo. My body would have been long worn out ## Omubiri gwange gwandibadde gwajenjebuka dda if the help of God had not come to Me and I was not protected. ## singa saafuna buyambi okuva eri Katonda era singa nnali sikuumibwa. Some men say 'Abdu'l-Bahá has come to the evening of His life ## Abantu abamu bagamba nti kati 'Abdu'l-Bahá akaddiye nnyo and He will now say goodbye to this world ## era kati anaatera okusiibula ensi eno because He is weak and ill and this will kill Him. ## kubanga anafuye ate nga mulwadde, olwo nno ajja kufa. This is not true. In the eyes of My enemies I am weak ## Kino si kituufu. Mu maaso g’abalabe bange ndi munnafu because I have suffered so much in serving Bahá'u'lláh. ## kubanga mbonyebonye nnyo mu buweereza bwange eri Bahá'u'lláh. But Bahá'u'lláh has given My spirit new strength and youth ## Naye nno Bahá'u'lláh awadde bupya Omwoyo gwange era anzizizza buto, and through His mercy to Me now even My body is stronger ## noolwekyo kusaasira Kwe eri Nze, kaakano n'omubiri gwange gweyongeddemu amaanyi and I am well and happy. ## era ndi bulungi era omusanyufu. 083 During the long years of the war ## Mu myaka gyonna emingi Ssematalo gye yamala, 'Abdu'l-Bahá was always busy. ## 'Abdu'l-Bahá buli kiseera yalinga akola nnyo. When He saw that war was coming ## Bwe yakiraba nti olutalo lwali lubindabinda, He made plans to protect the Bahá’ís and the poor from hunger. ## yakola enteekateeka ez'okukuuma Ababahá’í n'abanaku baleme okufa njala. He had grain planted ## Yasimba emmere ey’empeke nnyingi and when the hard years came and the people were starving, ## era emyaka emizibu bwe gyatuuka abantu ne babulwa eky’okulya, He saved many men's lives because He had food to give them. ## 'Abdu'l-Bahá yasobola okuwonya obulamu bw'abantu bangi kubanga yalina emmere ey'okubawa. No one could travel to the Holy Land ## Tewaali n’omu eyali asobola kugenda mu Nsi Entukuvu to see 'Abdu'l-Bahá during these years ## okulaba 'Abdu'l-Bahá for all the nations were fighting. ## kubanga amawanga gonna gaali mu kulwanagana. The evil chiefs who had always hated Him ## Abakulembeze ababi bulijjo abaali baamukyawa and who were angry when He was set free ## era abaali abanyiivu ennyo bwe yateebwa okuva mu nkomyo now turned their eyes to Him again. ## baamussaako nate eriiso ejjogi. One of the leaders of the fighting men said, ## Omu ku bakulembeze eyali aduumira abasajja abalwanyi yagamba nti, When I capture Haifa I will take 'Abdu'l-Bahá ## Bwe nnaawamba ekibuga Haifa, nja kukwata 'Abdu'l-Bahá and kill Him in the same way that Jesus Christ was killed. ## mutte mu ngeri yemu nga Yesu Kristo bwe yattibwa. But 'Abdu'l-Bahá was not afraid ## ## Naye nno 'Abdu'l-Bahá teyatiitiira n'akamu and went peacefully about His good work. ## era yeeyongera bweyongenzi okukola omulimu gwe omulungi. He knew His Father Bahá'u'lláh would protect Him. ## Yali akimanyi nti Kitaawe, Bahá'u'lláh, yali ajja kumukuuma. Two months before the war ended ## Nga wabulayo emyezi ebiri olutalo luggwe, the English soldiers captured Haifa. ## amagye ga Bungereza gaawamba ekibuga Haifa. Their commander had heard of 'Abdu'l-Bahá ## Eyali aduumira amagye yali amaze okuwulira ku muntu ayitibwa 'Abdu'l-Bahá, and had been instructed to protect Him. ## era yali aweereddwa ebiragiro okumukuuma Aleme kutuukibwako kabi. So once again those who hated Him were defeated ## Kale nno nate era abalabe be baawangulwa and His life was protected. ## era obulamu bwe ne butatuukibwako kabi konna. 084 So great was the love and admiration of this commander for 'Abdu'l-Bahá ## Okumanya omuduumizi ono yayagala era ne yeegomba nnyo 'Abdu'l-Bahá, that he asked his king to confer on Him a special honor and 'Abdu'l-Bahá was given the title of "Sir". ## yatuuka n’okusaba kabaka we amuwe ekitiibwa “Sir”. He did not want this ## Ekitiibwa kino ‘Abdu’l-Bahá Ye yali takyeyagaliza, but when He saw the English commander would be very sad ## naye bwe yalaba ng’omuduumizi yali ajja kunakuwala nnyo if He refused, He accepted. ## singa akigaana, yamala n’akikkiriza. 085 Now the war was ended ## Kubanga olutalo lwali luwedde, the Bahá’ís could again visit 'Abdu'l-Bahá ## Ababahá’í baali basobola okukyaliranga ‘Abdu’l-Bahá and they came from all over from East and West. ## era bajjanga okuva mu nsi yonna, e Buvanjuba n’e Bugwanjuba. Among them was a good doctor who wrote a book like this one. ## Mu bano mwalimu omusawo omulungi eyawandiika ekitabo ekifaanana nga kino. He saw with his own eyes the life of 'Abdu'l-Bahá ## Omusawo oyo yeekaliriza obulamu bwa 'Abdu'l-Bahá, and stayed with Him over seventy days. ## era yabeera naye okumala ebbanga eryali lisukka mu nnaku ensanvu. He said 'Abdu'l-Bahá worked all day long ## Yagamba nti 'Abdu'l-Bahá yakolanga obudde bw’emisana bwonna era kumpi and much of the night even though He was an old man. ## n'ekiro kyonna newaakubadde yali musajja mukadde. He would pray and meditate in the quiet night hours. ## Yasabanga n’okufumiitiriza mu biseera by’ekiro ebyakasirise. He wrote many letters, saw many visitors, ## 'Abdu'l-Bahá yawandiikanga ebbaluwa nnyingi, yasisinkananga bagenyi bangi, went among the poor and sick and helped them ## yakyaliranga abanaku n'abalwadde n’okubayamba as He had always done all His life. ## nga bwe yali akola bulijjo mu bulamu Bwe bwonna. He was so patient and so kind and good. ## Yali mugumiikiriza nnyo era ow’ekisa ekingi era omuntu omulungi. He never made any man suffer but was like a light. ## Teyalumya ku muntu yenna, wabula yali kitangaala. Wherever He went He brought happiness to men. ## Buli gye yagendanga, yaleetanga ssanyu mu bantu. His words were not only wise ## Ebigambo Bye tebyalinga bya magezi kyokka but good to hear and He often made men laugh. ## wabula byabeeranga birungi kuwuliriza, era enfunda nnyingi byabasesanga. He was like a loving father to all the Bahá’ís ## Yalinga taata omulungi eri Ababahá’í bonna, not only in Haifa but everywhere in the world. ## si mu Haifa mwokka wabula ne mu bitundu byonna eby'ensi. 086 On November 28, 1921 'Abdu'l-Bahá died. ## Nga 28 November 1921, 'Abdu'l-Bahá yafa. He was seventy-seven years old. ## Yali aweza emyaka nsanvu mu musanvu egy'obukulu. A few weeks before He died He had a dream. ## Bwe waali wabulayo wiiki ntono afe, yaloota ekirooto. He was in a room in a little house that was near His home. ## Mu kirooto ekyo, yalaba ng'ali mu kisenge mu kayumba akatono akaali okumpi n'amaka Ge. Bahá'u'lláh came to Him and said: "Destroy this house." ## Bahá'u'lláh yajja gy'ali n’amugamba nti: "Ennyumba eno gisaanyeewo". 'Abdu'l-Bahá knew that these words did not mean He should tear down the house ## 'Abdu'l-Bahá yakimanya nti ebigambo ebyo byali tebitegeeza nti yali asaana kumenyawo nnyumba eyo but that the time had come for His spirit to leave the house of His body. ## wabula nti ekiseera kyali kituuse Omwoyo Gwe okwabulira ennyumba ey'omubiri Gwe. He told this dream to His family ## Ekirooto kino yakibuulirako ab'omu maka Ge, and they were surprised for they could not understand ## era beewunya nnyo kubanga baali tebategeera why Bahá'u'lláh commanded Him to destroy the house. ## lwaki Bahá'u'lláh yamulagira okumenyawo ennyumba eyo. They did not see the true meaning of this dream ## Tebategeera makulu amatuufu agaali mu kirooto kino until after He died. ## okutuusa 'Abdu'l-Bahá ng’amaze okufa. No one believed He was going to die. ## Tewali n'omu eyakkiriza nti ‘Abdu’l-Bahá yali agenda kufa. For a few days He had fever and remained in His room ## Okumala ennaku ntonotono yalina omusujja era teyava mu kisenge Kye, but He saw His friends and visitors ## wabula yasobolanga okulaba mikwano Gye n'abagenyi Be, and His words and acts were the same as always. ## era ebigambo n'ebikolwa Bye tebyakyukako n'akamu. His fever grew worse one night ## Ekiro kimu omusujja gwanyinyiitira and one of His daughters stayed with Him. ## era omu ku bawala Be n’abeeranga okumpi naye okumujjanjaba. She brought Him a drink and He looked at her and said, ## Bwe yamuleetera eky'okunywa, 'Abdu'l-Bahá kwe kumutunuulira n'amugamba nti: "You wish Me to drink and I am leaving." ## "Oyagala nnywe ate nga ŋŋenda." Then He closed His eyes ## Olwo bwe yazibiriza amaaso Ge and she though her Father was sleeping ## muwala We yalowooza nti yali yeebase bwebasi, but then she saw He was dead. ## wabula oluvannyuma yakitegeera nti Kitaawe yali afudde. 087 When 'Abdu'l-Bahá was buried, ## ‘Abdu’l-Bahá bwe yali aziikibwa, many, many thousands of men came to His funeral ## abantu nkumi na nkumi baakuŋŋaana okumuziika until the streets and the side of the Mountain were black with people. ## okutuusa enguudo zonna n'ebitundu ebyali ku mabbali g'olusozi lwe zaabooga nnasiisi w'abantu. No man could remember seeing a funeral like this. ## Tewali muntu eyali asobola okujjukira okulaba omuntu yenna okuziikibbwa abantu enkumu bwebatyo. All the chief men came and the poor came ## Abaami abakulembeze bonna wamu n'abanaku baakuŋŋaana and wept and said we have lost our father. ## ne baaziirana nga bwe bagamba nti baali bafiiriddwa kitaabwe. The chief men spoke of Him with great admiration. ## Abaami abakulembeze baamwogerako nga bamutendereza. They were chiefs of the English and the Christians ## Bano baali abaami abakulembeze abakulira Abangereza, Abaklristaayo, and the Muhammadans and the Jewish people. ## Abayisiraamu, n'Abayudaaya. All praised 'Abdu'l-Bahá as a great man ## Bonna baatendereza 'Abdu'l-Bahá nga bagamba nti yali omuntu ow’amaanyi ennyo in whose life only goodness could be seen. ## ng’obulamu Bwe bwayolesebwamu bulungi bwokka. 088 'Abdu'l-Bahá wrote many letters and books ## 'Abdu'l-Bahá yawandiika ebbaluwa nnyingi wamu n'ebitabo, and the words He spoke to the great gatherings of people in the West were written down. ## era ebigambo Bye yayogerera mu nkuŋŋaana gaggadde mu mawanga g'ebugwanjuba byawandiikibwa. We know what He was like and what He said ## Tumanyi bulungi embeera za 'Abdu'l-Bahá nga bwe zaali wamu n'ebyo bye yayogera, and words Of His enemies cannot change the truth ## era ebigambo by'abalabe Be tebiyinza kukyusa mazima for it is preserved for all men to read. ## kubanga abantu bonna basobola okubisoma. Before He died in the last years of His life ## Mu myaka egyasembayo mu bulamu Bwe nga tannafa, He wrote some very wise letters to the Bahá’ís in America. ## yawandiikira ebbaluwa Ababahá’í mu America ezaali zijjude ebigambo eby’amagezi. He said to them, "You are a free people ## Yabagamba bwati, "Muli bantu ab’eddembe and God has been very good to you and your hearts are good. ## era Katonda abadde mulungi nnyo gye muli, era n’emitima gyammwe mirungi. Therefore you must go out all over the world ## Noolwekyo muteekwa okugenda mu bitundu byonna eby'ensi and tell the people of all nations about Bahá'u'lláh ## mumanyise abantu ab'amawanga gonna ebyo ebifa ku Bahá'u'lláh, and teach them His words. ## era mubayigirize ebigambo Bye. In this way peace will come to the world ## Mu ngeri eno, emirembe gijja kubukala mu nsi yonna, and men will stop hating each other and live as brothers. ## era abantu bajja kukomya obukyayi eri bannaabwe olwo babeere ng'abooluganda. It is because of these letters 'Abdu'l-Bahá wrote ## Ebbaluwa zino 'Abdu'l-Bahá ze yawandiika ze zivuddeko that this book has been brought to you in your own language so you can learn ## ekitabo kino okukyusibwa mu lulimi lwo lwennyini olwo naawe osobole okumanya about Bahá'u'lláh Who is God's Messenger for this day. ## ebifa ku Bahá'u'lláh Omubaka wa Katonda ow'olunaku luno. 089 Who was 'Abdu'l-Bahá? ## 'Abdu'l-Bahá yali ani? He was not the same as the great Prophets. ## 'Abdu'l-Bahá teyali nga ba Nnabbi ab’amaanyi. But He was also not like other men. ## Ate era teyali ng'abantu abalala aba bulijjo. Bahá'u'lláh said "all Bahá’ís must ## Bahá'u'lláh yagamba nti: "Ababahá’í bonna bateekwa turn their faces to 'Abdu'l-Bahá and obey Him. ## okukyukira eri ‘Abdu’l-Bahá era n’okumugondera Ye. He said 'Abdu'l-Bahá would be the One ## Yagamba nti 'Abdu'l-Bahá ye yali Oyo to tell all men what His words meant. ## ow’okubuuliranga amakulu agali mu bigambo Bye Ye (Bahá'u'lláh). He said if two Bahá’ís do not agree about the meaning of My words ## Yagamba nti singa abagoberezi Be babiri babeera n'obutakkaanya bwonna ku makulu g'ebigambo Bye, they must ask 'Abdu'l-Bahá and He will tell them the truth. ## bateekwa okubuuza 'Abdu'l-Bahá nga Ye yekka alibabuulira amazima. He promised that His spirit would be near 'Abdu'l-Bahá ## Bahá'u'lláh yasuubiza nga omwoyo Gwe gulibeeranga kumpi ne 'Abdu'l-Bahá and guide Him always in the way of truth. ## era nti bulijjo gulimuluŋŋamyanga mu kkubo ery'amazima. We must try to be like 'Abdu'l-Bahá. ## Tuteekwa okugezaako okubeera nga 'Abdu'l-Bahá. We must look at His life and His words and acts and say, ## Tuteekwa okutunuulira obulamu Bwe, ebigambo Bye n'ebikolwa Bye era tugambe nti, "This was a Perfect Man, I will try to do as He did, ## "Ono yali Muntu Atuukiridde. Nange nja kugezaako okukola nga Ye bwe yakolanga. I will try to be like Him and walk in His steps." ## Nja kugezaako okumufaanana Ye era natambuliranga mu bigere Bye." 090 Bahá'u'lláh said, ## Bahá'u'lláh yagamba nti, "A tree that gives no fruit is fit for the fire." ## "Omuti ogutabala bibala gusaana kusuulibwa mu muliro." 091 If a man wished to get food from the soil ## Omuntu bw'abeera ayagala okufuna emmere okuva mu ttaka, he must plant in good earth and not among stones. ## ateekwa okusiga ensigo mu ttaka eddungi so si wakati mu mayinja. So Bahá'u'lláh said we cannot make a good way of life for men ## Bahá'u'lláh yagamba nti tetusobola kwagazisa bantu obulamu obulungi if each man in himself is like a stone. ## singa buli muntu munda mu ye afaanana ng’ejjinja. Out of stone nothing grows. The stones must be changed. ## Mu mayinja tewali kiyinza kukuliramu. Amayinja gateekwa okukyusibwa. Each man's heart must be changed first ## Buli mutima gw’omuntu guteekwa okumala okukyusibwa before the Kingdom can be established in this world. ## olwo Obwakabaka busobole okusimba amakanda mu nsi eno. The beginning of change must be inside each man. ## Entandikwa y'enkyukakyuka eteekwa kubeera munda mu mutima gwa buli muntu. 092 What is Bahá’í? ## Omubahá’í y'afaanana atya? 'Abdu'l-Bahá said: "A Bahá’í is a man who loves all men ## 'Abdu'l-Bahá yagamba bwati, "Omubahá’í ye muntu ayagala abantu bonna and who tries to serve all men, ## era agezaako okuweereza abantu bonna, a man who works to make peace ## omuntu akolerera okuleetawo emirembe and to help all men to live as brothers. ## era n’okuyamba abantu bonna okubeera ng'abooluganda. If a man calls himself a Baha'i for fifty years ## Omuntu bwe yeeyita Omubahá’í okumala ebbanga lya myaka ataano, and does not show every day in his life with other men ## naye nga buli lunaku mu bulamu bwe n’abantu abalala that he is truly a Bahá’í in the acts, ## tayolesa nti mu mazima Mubahá’í mu bikolwa bye, it is useless; he is not a Bahá’í. ## kino kya bwewussa; omuntu oyo tabeera Mubahá’í. 093 'Abdu'l-Bahá explained that each year ## 'Abdu'l-Bahá yannyonnyola nti mu buli mwaka the fruit tree needs the light of the sun in order to produce fruit. ## omuti ogubala ogw’ebibala gwetaaga ekitangaala ky'enjuba gusobole okumulisa okuzaala ebibala. It is no use to say to the tree, ## Tekigasa okugamba omuti ogwo nti, "When my father was a young man the sun shone ## "Kitange bwe yali ng'akyali muvubuka, omusana gwayaka, and now you must grow fruit with that light. ## naawe kaakano oteekwa okussaako ebibala nga weeyambisa ekitangaala ekyo. The light of past years is useless to the tree. ## Ekitangaala eky’emyaka egyayita tekirina mugaso eri omuti. It must have new light each year. ## Guteekwa okufuna ekitangaala ekipya buli mwaka. So it is with men. ## Bwekityo bwekiri n’eri abantu. Fruit that grew out of the lives of men in past centuries ## Ekibala ekyava mu bulamu bw'abantu mu byasa ebiyise, who received light from Jesus Christ ## abaafuna ekitangaala okuva mu Yesu Kristo or from Muhammad or other Messengers was good fruit. ## oba mu Muhammad oba mu Babaka abalala, kyali kibala kirungi ddala. But now for this day we need new light ## Naye kaakano mu lunaku luno twetaaga ekitangaala ekipya in order to grow new fruit in men's lives. ## kitusobozese okubaza ekibala ekipya mu bulamu bwaffe. This new light comes from Bahá'u'lláh and His words. ## Ekitangaala kino ekipya kiva mu Bahá'u'lláh n'ebigambo Bye. He is like the sun shining today ## Bahá'u'lláh afaanana ng’omusana ogwaka olwaleero, and His good words will make men's hearts ripen ## era ebigambo Bye ebirungi birisobozesa emitima gy’abantu okwengera like fruit and give a rich harvest. ## ng’ekibala era kiveemu amakungula amalungi. The Bahá’ís do not say because Bahá'u'lláh was good ## Ababahá’í tebasinza Bahá'u'lláh kubanga yali mulungi, and noble and suffered greatly, we worship Him. ## ow'ekitiibwa era eyabonaabona ennyo. They say we worship Bahá'u'lláh because the light that comes from God ## Bagamba nti basinza Bahá’u’lláh kubanga ekitangaala ekiva eri Katonda shone in Him in this day. ## kyakira mu Ye mu lunaku luno. A Bahá’í worships Jesus Christ and Muhammad and all the Prophets ## Omubahá’í asinza Yesu Kristo ne Muhammad wamu ne Bannabbi abalala bonna because they are all the Sons sent out ## kubanga bonna Baana abaatumibwa by the One Great Father to teach the people. ## Kitaabwe Omu Omusukkulumu okujja okuyigiriza abantu. A Bahá’í says all these Great Ones spoke the truth ## Omubahá’í agamba nti ab’Amaanyi Bano baayogera mazima, but the words of Bahá'u'lláh are for our time ## naye ebigambo bya Bahá'u'lláh by' ebyo eby'ekiseera kyaffe, and will help us to ripen a new harvest. ## era bye bijja okutuyamba okuvaamu ebibala eby'amakungula amapya. 094 Jesus Christ said unless a man be born again he cannot enter heaven. ## Yesu Kristo yagamba nti okuggyako nga omuntu azaalibwa omulundi ogwokubiri, tayinza kuyingira mu ggulu. He meant that each man must choose for himself the road leading to heaven, ## Mu ekyo yali ategeeza nti buli muntu ye kennyini ateekwa okwelondera ekkubo erimutuusa mu ggulu, and then he must put his feet on that road and walk for himself. ## olwo n'alyoka ateeka ebigere bye mu kkubo eryo era ye kennyini nalitambula ku lulwe. It is not an easy road ## Ekkubo eryo si lyangu and when a new road is pointed out to men by one of God's Messengers ## era omu ku Babaka ba Katonda bw'alisonga olunwe mu kkubo eppya, they must have clear eyes to see it and great courage ## abantu bateekwa okubeera n'amaaso agalaba obulungi basobole okuliraba, era bateekwa okubeera n'obuvumu bungi to leave the old well-worn path and take the new one. ## okusobola okuleka amakubo amakadde batambulire mu kkubo eppya. This is what the disciples of Jesus Christ did. ## Kino Abatume ba Yesu Kristo kye baakola. They left the path the Jewish people were walking in ## Baaleka ekkubo Abayudaaya lye baatambulirangamu and followed on the path where Jesus Christ led them. ## ne batambulira mu kkubo Yesu Kristo lye yabalaga. Now Bahá'u'lláh has done the same thing. ## Kaakano ne Bahá’u’lláh akoze ekintu kye kimu. He is leading men on a new road ## Akulembedde abantu mu kkubo eppya which will take them to a new and better life. ## erinaabatuusa mu bulamu obupye era obulungi. Each man must look at this road carefully ## Buli muntu ateekwa okutunuulira ekkubo lino and see if it is the right road to walk upon. ## n'obwegendereza, alabe oba nga ly'ekkubo ettuufu okutambuliramu. 095 All these Great Men have said, ## Abantu abo bonna ab’Amaanyi baagamba nti, Open your eyes and see for yourself if what I tell you is true. ## Muzibule amaaso gammwe mwelabireko mwe mwennyini oba nga bye njogera bya mazima. If you believe it is true, follow Me ## Bwe mukkiriza nti bya mazima, mungoberere Nze and do not turn back because of the blindness of other men. ## era temukyuka kutunula mabega olw'abantu abalala abazibe b'amaaso. Only through seeing clearly ## Amaaso agalaba obulungi ge gokka can each man see through the clouds of false ideas ## agayinza okusobozesa omuntu okulaba ebiri emabega w’ebire by’ebirowoozo eby’obulimba and old customs that surround him ## n’empisa z’obuwangwa ez’edda ezimwetoolodde, and step out of the old path which is no more useful ## olwo n’alyoka ava mu kkubo ery'edda eritakyalina mugaso, and put his feet in the new path ## n'ateeka ebigere bye mu kkubo eppya that leads to a better life in this new day. ## eriyinza okumutuusa mu bulamu obusingako obulungi mu lunaku luno olupya. 096 A Bahá’í must be a man who is not afraid to look for the truth. ## Omubahá’í ateekwa okubeera omuntu atatya kunoonya mazima. He must think with his own mind ## Ateekwa okwerowooleza n'amagezi ge and feel with his own heart. ## n'okuwuliriza n’omutima gwe. Bahá'u'lláh said a man must know his own heart ## Bahá'u'lláh yagamba nti omuntu ateekwa okumanya omutima gwe kye gumugamba and see for himself what is good and what is evil, ## era ye kennyini okweyamulirawo wakati w’ekirungi n'ekibi, what leads to honor and what leads to shame. ## ekyo ekimuweesa ekitiibwa n’ekyo ekimutuusa mu kuswala. 097 Wisdom comes from God ## Amagezi gava eri Katonda but no man can know Him as he knows another man ## naye tewali muntu ayinza okumanya Katonda nga bw'amanyi omuntu omulala for He is far away and above all things ## kubanga Ye ali wala nnyo era waggulu w'ebintu byonna ebiri ku nsi. and man is living on the earth. ## YYY Therefore he can only know God through those Great Men ## Noolwekyo omuntu ayinza okumanya Katonda ng'ayita mu Bantu abo ab’Amaanyi who talk with Him and are not like other men. ## aboogera ne Katonda era abatafaanana bantu balala. In the beginning before creation ## Ku lubereberye ng'ebintu byonna tebinnatondebwa, God was alone but He was full of love. ## Katonda yaliwo bwannamunigina wabula ng'ajjudde okwagala. He was like a father who has no children ## Yali ng'omuzadde atalina baana, but longs to have children ## naye n’ayagala nnyo okubafuna so that he can love them and they can love him. ## alyoke abaagale nabo bamwagale. God created man so that he could show His love ## Katonda yatonda omuntu bwatyo amulage okwagala Kwe and be loved by His children. ## era n’abaana Be bwebatyo bamwagale Ye. A father can love his children greatly ## Taata ayinza okwagala ennyo abaana be but if they do not love their father ## naye abaana bwe batayagala kitaabwe they do not feel his love for them. ## tebayinza kumanya kwagala kw’alina gye bali. They are like plants in the shadow. ## Babeera ng'ebimera ebiri mu kisiikirize. The sun is shining but its light does not warm them. ## Omusana gwaka naye ekitangaala kyagwo tekibituukako okubiwa ebbugumu. The first thing a man must do is to love God ## Ekintu ekisooka omuntu ky'ateekwa okukola kwe kwagala Katonda so that he can stand in the light of His love and receive it. ## bwatyo asobole okuyimirira mu kitangaala ky'okwagala kwa Katonda era akufune. How can a man love God? ## Omuntu ayinza atya okwagala Katonda? He never sees Him, he never hears Him, ## Tamulaba Ye, tamuwulira Ye n’amatu ge, He does not know where He is. ## tamanyi gy'ali Ye. The only way he can know Him and love Him is through His Messenger. ## Ekkubo lyokka mw'ayinza okuyita okumumanya n'okumwagala Ye liri mu Mubaka wa Katonda. Because as we said before, this Great Man is different. ## Nga bwe twagambye okusooka, Omuntu ono ow’Amaanyi wa njawulo. He lives in this world with us in a body like other men ## Abeera naffe mu nsi eno mu mubiri gwe gumu n’ogwabantu abalala but His Spirit is a different Spirit ## naye Omwoyo Gwe Mwoyo gwa njawulo and He hears God's Words and sees His Light. ## era awulira Ebigambo bya Katonda era alaba Ekitangaala Kye. He is a perfect mirror in which other men can see the sun reflected. ## Ye abeera ndabirwamu etuukiridde abantu abalala mwe bayinza okulabira ekifaananyi ky’enjuba. 098 A man may have two sons who are very unlike each other ## Omuntu ayinza okuba ne batabani be babiri naye nga tebafaanaganira ddala and do not understand each other. ## era nga tebategeeragana. But if they both love their father very much and respect his will, ## Naye bwe babeera nga baagala nnyo kitaabwe era nga bassa ekitiibwa mu ebyo ye by’ayagala bikolebwe, they will love each other because they will say, ## nabo bajja kwagalana kubanga bajja kugamba nti, "My father loves my brother very much ## "Kitange ayagala nnyo muganda wange, and to make my father happy I will also love my brother ## era okusanyusa kitange nange nteekwa okwagala muganda wange, and when he sees I love my brother ## era bw'anaalaba nga njagala muganda wange, he will be pleased with me and love me more. ## bwatyo naye ajja kunsannyukira era yeeyongere nange okunjagala. 'Abdu'l-Bahá says this is the way men must love each other. ## 'Abdu'l-Bahá agamba nti eyo y'engeri abantu gye bateekwa okwagalanamu. Even though they are different and do not like each other, ## Newaakubadde ba njawulo era nga si baamukwano, they must love each other ## bateekwa okwagalana because God loves all men and He is the father of all men ## kubanga Katonda ayagala abantu bonna era Ye Taata wa bonna and therefore all men are brothers. ## era kino kifuula abantu bonna okubeera abooluganda. 099 If you are thirsty and a man brings you water to drink, ## Singa omuntu akuleetera amazzi okunywa ng’olumwa ennyonta, you will not refuse the water because you do not like the man. ## tojja kugaana mazzi ago kubanga omuntu oyo agaleese tomwagala. If the water is pure you will accept it. ## Amazzi ago bwe gabeera nga amalongoofu ojja kugakkiriza. 'Abdu'l-Bahá said we must accept the truth ## 'Abdu'l-Bahá yagamba nti tuteekwa okukkiriza amazima, no matter who brings it to us. ## si nsonga ani abeera agaleese gye tuli. He said men are ignorant and full of dislike of each other ## Yagamba nti abantu bali mu butamanya era bajjudde effutwa eri bannaabwe and because of this the different peoples have fought amongst themselves. ## era nti olw’ensonga eno, abantu abatafaanagana mu mbeera zaabwe babadde balwanagana bokka na bokka. Each one has said that only the words of Jesus Christ are true ## Buli omu agamba nti ebigambo bya Yesu Kristo bye byokka eby'amazima, or only the words of Muhammad are true ## oba nti ebigambo bya Muhammad bye byokka ebyamazima, or only my church is right, your church is wrong. ## oba nti ekkanisa yange yokka ye ntuufu, eyiyo nkyamu. He said if men will look carefully ## Yagamba nti singa abantu bonna batunula n'obwegendereza, they will see the same truth was spoken by all the Prophets. ## bajja kukizuula nti Bannabbi bonna boogedde ebigambo bye bimu eby'amazima. All of Them brought pure water for men to drink and quench their thirst, ## Bonna baaleetera abantu amazzi amalongoofu banywe era bawone ennyonta, but as Each One gave the water in a different cup ## naye nga Buli Omu yaleetanga amazzi gano mu kikompe kya njawulo. the followers of these Great Men fought over the difference in cups ## Abagoberezi b’Abantu bano ab’Abamaanyi baalwanagana lwa njawulo mu bikompe and forgot the pure water. ## ne beerabira amazzi amalongoofu agaali mu bikompe bino. 100 If a man loves his father he will follow him ## Omuntu bw'abeera ng'ayagala kitaawe ajja kumugoberera even if it means death for him. ## ne bwe kibeera nga kiyinza okumuviiramu okuttibwa. So a good Bahá’í follows the words of Bahá'u'lláh ## Noolwekyo Omubahá’í omulungi agoberera ebigambo bya Bahá'u'lláh and obeys Him even if he suffers because of this, ## era n'okumugondera Ye ne kibeera nga kino kimuviiramu kubonaabona kwokka even if he is killed because of this. ## wabula mpozzi n’okufa. Bahá'u'lláh said everything in the world God has given men to have for themselves. ## Bahá'u'lláh yagamba nti Katonda yawa abantu buli kintu kyonna ekiri ku nsi bakyetwalire. Only evil deeds has He forbidden them ## Ebikolwa ebibi byokka Ye bye yabagaana and that which will hurt them or make them ill. ## wamu n'ebyo ebiyinza okubalumya oba okubalwaza. There is only one thing God has asked men to give Him ## Waliwo ekintu kimu kyokka Katonda ky’asaba abantu okumuwa, and this is their hearts. ## era gino gye mitima gyabwe. He said the heart of a man is the house of God ## Yagamba nti omutima gw'omuntu ye nnyumba ya Katonda in which His love must live. ## okwagala kwe mwe kuteekwa okubeera. When a man's heart has this love ## Omutima gw'omuntu bwe gubeeramu okwagala kuno, he will be safe on the journey of life. ## omuntu alikuumibwa mu lugendo lw'obulamu bwe. If he is a poor man or a rich man, a well man or a sick man, ## Abeere mwavu oba muggagga, omulamu oba omulwadde, if he suffers or he is happy, ## abonaabona oba omusanyufu, he will be protected in this life ## alikuumibwa bulungi mu bulamu buno and his spirit will be protected after he dies ## era n'omwoyo gwe gulikuumibwa oluvannyuma lw’okufa kwe if he keeps in his heart the love for God. ## singa akuuma okwagala kwa Katonda mu mutima gwe. 101 A boy does not argue with his father's or his chief's instructions. ## Omulenzi tawakanya biragiro bya kitaawe oba eby'omwami amufuga. He obeys because he says this is a wise man who knows more than I do. ## Abigondera kubanga agamba nti ono muntu wa magezi amanyi ebingi okusinga nze. Man must obey the commands of the Prophets in this same way ## Omuntu ateekwa okugondera ebiragiro bya Bannabbi mu ngeri y’emu eno and if they do not understand they must say, ## era bw'abeera nga tategedde ateekwa okugamba nti "He is wise, He is right and I will do as He says for this is good for me." ## "Ono Muntu mugezi, Ye ye mutuufu era nja kukola Ye ky'agamba kubanga kino kye kirungi ku lwange." If children refuse to obey their father, the family is weakened. ## Singa abaana bagaana okugondera kitaabwe, amaka ganafuyizibwa. If the people of a village refuse to obey their chief, the village is weakened. ## Singa abantu ab'oku kyalo bagaana okugondera omwami abafuga, ekyalo kibeera kinafuyizibwa. Today all the people in the world are enemies of each other ## Olwaleero mu nsi yonna, buli muntu mulabe wa munne because there is no one whose voice they will listen to and obey. ## kubanga tewali ddoboozi lya muntu yenna lye bayinza kuwuliriza n'okugondera. Now Bahá'u'lláh has come to men and speaks with the voice of God. ## Kaakano Bahá'u'lláh azze eri abantu era ayogera gye bali mu ddoboozi lya Katonda. If men obey Him, their wars will end ## Singa abantu bamugondera, entalo zaabwe zijja kugwawo and they will be able to live peacefully ## era bajja kusobola okubeera mu mirembe like the people in a village who listen to and obey the words of a good chief. ## okufaanana ng'abantu ab'oku kyalo abawuliriza era n’okugondera ebigambo by'omwami w’ekaylo omulungi. 102 Bahá'u'lláh said, "If you wish God to have mercy on you, ## Bahá'u'lláh yagamba bwati: "Bwe mubeera nga mwagala Katonda abasaasire, do not try to do that which is only good for yourself ## temugezaako kukola ebyo ebirungi bye mweyagaliza mwekka but do that which is good for all men. ## naye mukole ebyo ebirungi eri abantu bonna. If you wish God to treat you with justice, ## Bwe mubeera nga mwagala Katonda abeere mwenkanya gye muli, choose for others the same things you choose for yourself. ## mulondewo okukolera bannammwe ebintu nammwe bye mwegwanyiza. Jesus Christ said, "What you do for the least important of my people ## Yesu Kristo yagamba bwati: "Bye mukolera omuntu asingira ddala okunyoomebwa mu bantu bange is the same as if you had done it for Me. ## bye bimu ng’ebyo bye mubeera mukoledde Nze. With a kind heart and with a desire to be of help to all other men ## n'omutima ogw’ekisa era ogwegomba okuyamba abantu ablala bonna. each man must do his work. ## Buli muntu ateekwa okukola omulimu gwe However unimportant his work is, ## Omulimu gw’omuntu ne bwe gubeera nga si gwakitiibwa gutya, if he does it well and with a good will ## singa omuntu agukola bulungi n’okwagaliza, it is the same as if he prayed to God. ## abeera ng’awaayo essaala eri Katonda. To be of help to other men is praising God and worshipping Him. ## Okuyamba abalala kubeera kutendereza Katonda n'okumusinza. 103 Bahá'u'lláh said, "Those who follow Me must serve God with wisdom. ## Bahá'u'lláh yagamba bwati: "Abo abangoberera Nze bateekwa okuweereza Katonda n'amagezi. Through their good acts they must teach others. ## Nga bayita mu bikolwa byabwe ebirungi, bateekwa okuyigiriza abalala. The effect of good acts is stronger than the effect of good words. ## Amaanyi g’ebikolwa ebirungi gasinga amaanyi g’ebigambo ebirungi. Those who teach others must have clean hearts ## Abo abayigiriza abalala bateekwa okubeera n'emitima emirongoofu, and must not try to place themselves above other men. ## era tebateekwa kugezaako kweteeka mu kifo eky'awaggulu okusinga abalala. Some men are content with words alone ## Abantu abamu bamatira olw'ebigambo byokka, but the test of whether their words are true or not is their acts and how they live. ## naye ekigezo ekisalawo oba ng'ebigambo byabwe bya mazima oba si bya mazima kibeera mu bikolwa byabwe n'embeera zaabwe. Acts show what a man is. ## Ebikolwa bye biraga embeera entuufu ey'omuntu. The truth of a man's words is shown in his acts. ## Amazima g'ebigambo by'omuntu galabikira mu bikolwa bye. 104 A Bahá’í must not force his beliefs on other men. ## Omubahá’í tateekwa kukakaatika nzikiriza ye ku bantu balala. He must speak to them kindly ## Ateekwa okwogera nabo n'ekisa and lead them to the new path of Bahá'u'lláh. ## era abakulembere mu kkubo lya Bahá'u'lláh eppya. He must not force people into His path. ## Tateekwa kuwaliriza bantu kukwata kkubo lye. Bahá'u'lláh said a wise man does not speak ## Bahá'u'lláh yagamba nti omuntu omugezi tayogera unless he finds an ear which wishes to listen. ## okuggyako ng'amaze okulaba nti waliwo amutegedde okutu era ey'etegesse okumuwuliriza. A man carrying a cup of pure water ## Omuntu akutte ekikompe ky'amazzi amalongoofu does not give it to a man who does not want to drink. ## takiwa muntu atalumwa nnyonta. A lover does not open his heart ## Omuntu alina gw’ayagala tabikkula kiri ku mutima gwe until he sees before him his loved one. ## okutuusa ng'oyo gw’ayagala ali mu maaso ge. Therefore I say to you plant the seeds of love for the Great Spirit ## Noolwekyo mbagamba nti musige ensigo ez'okwagala ku lw'Omwoyo ow’Amaanyi and the seeds of wisdom ## era n'ensigo ez'amagezi in the soil of good hearts and not in stone and sand. ## mu ttaka ly'emittima emirungi, so si mu mayinja ne mu musennyu. In this way the fruit will be harvested. ## Mu ngeri eno, ebibala bijja kukungulwa. Bahá'u'lláh said, "You have been favoured by God, ## Bahá'u'lláh yagamba bwati: "Katonda abawadde omukisa, do not soil your mouths with curses ## temwonoona mimwa gyammwe n'ebikolimo or unworthy words spoken to others. ## oba n’ebigambo ebitasaanidde bye mwogera eri abantu abalala. Do not be shameless in your glances at others. ## Temweweebula mu ngeri gye mutunuuliramu abantu abalala. Show others this truth which you have found. ## Mubuulire abantu bonna amazima gano gemuzudde. If they accept it you have fulfilled your good work. ## Singa bagakkiriza, munaabeera mutuukirizza omulimu gwammwe omulungi. It they do not accept it ## Singa bagaana okugakkiriza, then it is a waste of time to reproach them ## olwo kubeera kwonoona biseera okubanenya or to interfere with them. ## oba okw'eyingiza mu nsonga zaabwe. Leave them alone. ## Mubalekere eddembe lyabwe. You yourself walk in the path of God. ## Mmwe mwennyini mutambulire mu kkubo lya Katonda. Do not cause sorrow to others. ## Temuleetera balala kunakuwala. Do not cause strife and never cause an uprising. ## Mwewale okuleetawo obukuubagano n'obusambatukko. I hope you may do what God wishes you to do. ## Nnina essuubi nti mujja kukola ebyo Katonda Ye by’ayagala mukole. All men are the leaves on one tree ## Abantu bonna bali ng’amalagala g'omuti ogumu and the drops of water in one sea. ## era amatondo g'amazzi mu nnyanja emu." 105 Bahá'u'lláh said, "O you men who love God! ## Bahá'u'lláh yagamba nti, "Abange mmwe abantu abaagala Katonda! I call upon you to be courteous. ## Mbakowoola okubeera ab'eggonjebwa. Blessed is the man who is courteous and trustworthy. ## Alina omukisa omuntu oyo alina eggonjebwa era ow'amazima. And He said: "Beware, beware that you do not offend or hurt any man." ## Ate era n'agamba bwati: "Mwekuume, mwekuume muleme okunnyiza oba okulumya omuntu yenna." And 'Abdu'l-Bahá said: "Beware, beware that you do not cause hopelessness to any heart. ## Ate Ye ‘Abdu’l-Bahá yagamba nti: "Mwekuume, mwekuume muleme okuleetera emitima gy’abantu okuggwamu essuubi. If a man causes sorrow to the heart of another man ## Singa omuntu yenna aleetera omutima gw’omuntu omulala okunakuwala, and deprives him of hope, ## wamu n’okumuggyamu esuubi, it were better for him to hide himself in the earth rather than walk upon it. ## kyandisingako omuntu oyo ne yeekweka munda mu ttaka okusinga okulitambulirako. 106 In every man's heart is some good thing ## Mu buli mutima gwa muntu mulimu ekintu ekirungi and we must look for that good thing and help it to grow. ## tuteekwa okunoonya ekyo ekirungi mu ye era tukiyambe okukula. Bahá'u'lláh has commanded His followers ## Bahá'u'lláh alagira abagoberezi Be to be forgiving towards other men and even to their enemies. ## okusonyiwanga abantu abalala ne bwe babeera balabe baabwe. We must not pretend to forgive them ## Tetuteekwa kwefuula bwefuuzi ababasonyiye for this is like having two faces, ## kubanga kino kifaanana ng'okubeera bannankobabbirye, a real face which shows we do not forgive ## obwanga obumu nga bulaga nti tubasonyiye and a smiling mask we hold up to others ## ate n’akakoolo akaliko akamwenyumwenyu ke twetimbira abalala to make them think we are forgiving and loving. ## okubawuddiisa nti tubasonyiye era nti tubaagala. Our love and kindness must be true ## Okwagala kwaffe n'ekisa biteekwa okubeera eby'amazima, otherwise we cannot find the good ## nga bwe kitabeera bwekityo tetuyinza kuzuula ekintu kirungi in the hearts of our enemies and help it to grow. ## ekiri mu mitima gy'abalabe baffe n'okukiyamba okukulaakulana. 107 Bahá'u'lláh has forbidden men to speak evil to others. ## Bahá'u'lláh agaana abantu okwogera obubi ku bannaabwe. He said, "The tongue is like a slow-burning fire ## Yagamba bwati: "Olulimi lufaanana omuliro ogwaka empolampola and too many words are like deadly poison. ## era n'ebigambo ebingi bifaanana obutwa nnamutta. Real fire destroys for a few years ## Omuliro ogwakira ddala guzikiriza ebintu okumala emyaka mitono but the fire of an evil tongue destroys a man's name for generations. ## naye omuliro gw'olulimi olubi guzikiriza erinnya ly'omuntu emirembe n’emirembe. 'Abdu'l-Bahá said: a man has ten bad things in him ## 'Abdu'l-Bahá yagamba bwati: "Omuntu bw'abeera n’ebintu ebibi kkumi ebiri mu ye, and he has only one good thing, ## naye ng'alinamu ekintu kimu kyokka ekirungi, speak of the one and keep silent about the ten; ## oyogerenga ku ekyo ekimu era osirikirenga ebirala byonna ekkumi; and if he has ten good things in him and only one evil thing, ## ate bw'abeera ng'alina mu ye ebirungi kumi n'ekibi kimu, speak of the ten and keep silent about the one. ## mwogerenga ku kkumi ebirungi, kiri ekibi ekimu mukisirikirenga. Jesus Christ said this same thing two thousand years ago ## Yesu Kristo naye yayogera ku kintu kino kye kimu emyaka enkumi bbiri egiyise when He saw the men stoning the woman who had done wrong ## bwe yalaba abasajja abaali baagala okukuba omukazi amayinja eyali akwatiddwa mu bwenzi and He said, "Let he who is without sin throw the first stone." ## era yabagamba nti: "Kale oyo atayonoonangako y’aba akasuka ejjinja ebbereberye." Bahá'u'lláh said, "As long as you are a sinner ## Bahá'u'lláh yagamba bwati: "Ggwe ng’okyali mwonoonyi, do not even whisper the sins of other men. ## toyogeranga wadde mukaama ku bibi by'abantu abalala. If you do this, I bear witness you will be accursed. ## Singa okola bwotyo, Nze mpa obujulizi nti olikolimirwa. And He said, Do not say of any man he has done thus and so, ## Era yagamba nti: "Temwogera ku muntu yenna nti akoze kino na kiri, unless you wish the same things to be said of you. ## okuggyako nga nnammwe mwagala ebintu bye bimu biboogerweko. Do not say you will do a certain thing unless you intend to do it. ## Temugambanga nti mujja kukola ekintu kino oba kiri okuggyako nga mumaliridde okukikola. These are My commands to you. Obey them. ## Ebyo bye biragiro byange Nze gye muli. Mubigonderenga." 108 'Abdu'l-Bahá said, "The worst thing in the nature of men ## 'Abdu'l-Bahá yagamba nti: "Ekintu ekisingira ddala obubi mu butonde bw'omuntu and the greatest evil is the way they speak wrong of other men behind their backs. ## era ekibi ekisingira ddala obunene y’engeri abantu gye bageyaamu bannaabwe. This is even more true when those who speak evil are Bahá’ís. ## Kino ate kibeera kibi nnyo singa abo abageya bannaabwe babeera Babahá’í. If some way could be found of stopping the gossip of men forever, ## Singa kyali kisoboka ne wafunikawo engeri eyinza okuyitibwamu okuziyiriza ddala abantu okugeya bannaabwe, especially those who are Bahá’ís ## naddala okuziyiza Ababahá’í, so that no more evil whisperings would come from them ## olwo nno obwama obubi ne butaddayo kuva mu bo, and they would only speak in praise or others, ## era ne boogeranga nga batendereza abalala, then the teachings of Bahá'u'lláh would spread all over the world ## kino kyandisobozesezza enjigiriza ya Bahá'u'lláh okubuna wonna mu nsi and all men would be happy and their hearts raised up. ## era abantu bonna bandibadde basanyufu, n’emitima gyabwe okuyimusibwa. 109 Bahá'u'lláh said, "How could you forget the evil in yourself ## Bahá'u'lláh yagamba bwati, "Wandyinzizza otya okwerabira obubi obuli mu mutima gwo gwennyini and busy yourself speaking of the evil in other men. ## ne weemalira mu kwogera ku bubi obuli mu bantu abalala? I curse whoever does this. ## Nkolimira oyo yenna akola kino. And He said, "I made the tongue of man to praise God. ## Era yagamba bwati, Nakola olulimi lw'omuntu okutendereza Katonda. Do not dirty it with speaking evil of others. ## Tolukyafuwaza ng'oyogera obubi ku balala. If the evil in your own heart overcomes you, ## Obubi obuli mu mutima gwo ggwe mwene bwe bukuyinga, remember your own wrongdoings and not those of other men. ## jjukira ebibi byo so si ebyo eby'abantu abalala. Every man knows his own heart better than he knows the hearts of other men. ## Buli muntu amanyi bulungi ebiri mu mutima gwe okusinga bw'amanyi ebiri mu mitima gy'abantu abalala. 110 'Abdu'l-Bahá said, "Follow the example of Jesus Christ. ## 'Abdu'l-Bahá yagamba bwati: "Mugoberere eky'okulabirako kya Yesu Kristo. He did not ask other men to serve Him. ## Teyasaba bantu balala okumuweereza. He served all men. ## Ye yaweerezanga abantu bonna. Bahá'u'lláh teaches that all must serve each other. ## Bahá'u'lláh atuyigiriza nti bonna bateekwa okuweereza buli omu ne munne. All must be like brothers and sisters. ## Bonna bateekwa okubeera ng'abooluganda. As soon as one man feels he is better than another man, he is in danger. ## Mangu ddala nga’omuntu atandise okwegulumiza ku mulala, olwo abeera agudde mu kabi. Not to be pleased with yourself is a good thing ## Kibeera kirungi obuteematira for the man who is pleased with himself is possessed of a devil ## kubanga omuntu eyeetendereza abeera awambiddwa ebibi and the man is not pleased with himself is near to God. ## era omuntu ateegulumiza abeera kumpi ne Katonda. If a man has a hundred good things in himself, he must not be pleased. ## Singa omuntu abeera n’ebintu ebirungi kikumi mu ye, tateekwa kwennyumiriza. He must look about for the bad thing in himself and try to overcome it. ## Ateekwa okwekebera mu nda ye yeezuulemu ekintu kyonna ekibi era agezeeko okukivvunuka. No matter how good a man is, it is always possible for him to be better. ## Omuntu ne bw'abeera mulungi atya, kisoboka bulijjo okweyongera okubeera omuntu omulungi asingako. It is like a man going up a hill. ## Kino kifaanana ng'omuntu alinnyalinnya olusozi. If he looks back he is pleased ## Bw'atunula wansi gy’avudde asanyuka, naye ate bw'atunula but if he looks up he sees he still has a long way to go. ## waggulu gy’alaga alaba ng’akyasigazzaayo olugendo luwanvu lw'akyalina okutambula. A man who praises himself is standing still. ## Omuntu eyeegulumiza abeera mu kifo kimu. A little more and he will be going downhill instead of uphill. ## Bwe yeeyongera mu mbeera eyo ajja kwesanga ng’addayo buzzi wansi w'olusozi mu kifo ky'okwambuka. 111 To confess the sins one has committed to another man, ## Okwejjusa ebibi omuntu by’abeera akoze eri omuntu omulala, be he a priest or not, is forbidden by Bahá'u'lláh ## abeere kabona oba si kabona, kino Bahá'u'lláh akiweze because to do this is humiliating. ## kubanga kiweebuula nnyo. Bahá'u'lláh says God does not wish ## Bahá'u'lláh agamba nti Katonda tayagala to humiliate men but to help them. ## kuweebuula bantu wabula okubayamba. A man must in his heart ask God to forgive him and help him. ## Omuntu, mu mutima gwe, ateekwa okwegayirira Katonda amusonyiwe era amuyambe. 112 Bahá'u'lláh taught that if men were trustworthy, ## Bahá'u'lláh yayigiriza nti singa abantu baali b'amazima, peace and safety will exist everywhere. ## emirembe n’obukuumi byandibaddewo wonna mu nsi. A man who can be trusted by other men is the greatest man of all. ## Omuntu ayinza okwesigibwa abantu bonna y’oyo ow’ekitiibwa asinga bonna. To be trusted a man must speak the truth. ## Okwesigibwa omuntu ateekwa okwogera amazima. To speak only the truth ## Okwogera amazima gokka is the first thing a man must have in his heart. ## kye kintu ekisooka omuntu yenna ky'ateekwa okubeera nakyo mu mutima gwe. When men lie and do not speak the truth ## Abantu bwe boogera eby'obulimba ne basuula ettale amazima, they cannot go forward because they cannot believe in each other ## tebayinza kugenda mu maaso kubanga buli omu tayinza kukkiriza munne ky'abagamba nti kituufu, and cannot trust each other and therefore they cannot work together. ## era tebayinza kwesigaŋŋana era noolwekyo tebayinza kukolagana. Bahá'u'lláh said when men speak the truth ## Bahá'u'lláh yagamba nti abantu bwe boogera amazima, then all the other virtues will grow in their hearts. ## olwo nno empisa endala ez’ekitiibwa zijja kukulaakulana mu mitima gyabwe. 113 God made men to be good like a tree which can bear good fruit. ## Katonda yatonda abantu babeere balungi okufaanana ng'omuti oguyinza okubala ebibala ebirungi. Bahá'u'lláh said, "God created men of a rich substance, ## Bahá'u'lláh yagamba, "Katonda yatonda abantu okuva mu bintu eby'omuwendo omungi, why do they make themselves mean and poor? ## lwaki beenyooma n’okwefuula abaavu? God created men noble, why do they stoop to such low acts? ## Katonda yatonda abantu nga bakitiibwa, lwaki beejoloonga ne bakola ebitasaanidde? God created wisdom in the hearts of men, ## Katonda yatonda amagezi mu mitima gy'abantu, why do they turn to other men for guidance? ## lwaki bakyukira abantu abalala basobole okuluŋŋamizibwa? In His love for men He molded them, ## Yababumba mu kwagala Kwe, why do they turn away from Him? ## lwaki bakyuka ne bamukuba amabega? Let them look into their own hearts ## Leka batunule mu nda mu mitima gyabwe and there they will find ## era munda omwo bajja kuzuulamu the mighty power of God's Spirit waiting for them. ## amaanyi g’obuyinza bw'Omwoyo wa Katonda nga bubalindiridde. Bahá'u'lláh is calling His followers ## Bahá'u'lláh akowoola abagoberezi Be to become noble, wise and truth-speaking men. ## okufuuka ab'ekitiibwa, abagezigezi era abantu aboogezi b’amazima. He said, "Your spirit is like a knife of good metal. ## Yagamba bwati: "Omwoyo gwo gufaanana ekiso ekyakolebwa mu kyuma ekirungi. Draw it out of the cover of unworthy desires and acts ## Gukukunuleyo gye gwekwese mu kwegomba n’ebikolwa ebitasaana so that its perfection may be seen by all men. ## bwegutyo okutuukirira kwa gwo kusobole okulabibwa abantu bonna. The only way we can do this, ## Engeri yokka gye tuyinza okukola kino, the only way we can change our hearts and our lives ## engeri yokka gye tuyinza okukyusaamu emitima gyaffe n'obulamu bwaffe is to turn to the Great Man Who is God's Messenger in this day, ## kwe kukyukira Omuntu ow’Amaanyi ennyo, ng’Oyo ye Mubaka wa Katonda ow’olunaku luno, and that Great Man is Bahá'u'lláh. ## era Ono ye Bahá'u'lláh. Chapter 6 ## ESSUULA VI 114 The Prophet Muhammad said that prayer is like a rope ## Nnabbi Muhammad yagamba nti okusaba kufaanana ng’omugwa which every man can climb up until he reaches heaven. ## buli muntu gw'ayinza okulinnyirako okutuusa lw'atuuka mu ggulu. 115 'Abdu'l-Bahá said, "Prayer is talking with God". ## 'Abdu'l-Bahá yagamba bwati: "Essaala mwe tuyita okwogera ne Katonda." For God to direct men into the right path ## Okusobola okuluŋŋamya abantu mu kkubo ettuufu, He must speak to them in words they understand. ## Katonda ateekwa okwogera nabo mu bigambo bye bategeera. He does this through the mouths of the great Prophets. ## Kino akikola ng'ayita mu kamwa ka Bannabbi ab’amaanyi. As long as these Great Men are alive ## Abantu bano Abaamaanyi ekiseera kye bamala nga bakyali balamu, They give us the instructions of God ## batuwa ebiragiro bya Katonda and after They die we have Their words and Their books to guide us. ## era oluvannyuma lw'okufa kwabwe tuluŋŋaamizibwa ebigambo byabwe n’ebitabo bye baawandiika. But this is not the only way God can reach us. ## Naye eno si y’engeri yokka Katonda mw’ayinza okuyita okututuukako. There is a language of the spirit and heart ## Waliwo olulimi lw'omwoyo n'omutima which is neither words nor writing. ## olutali mu bigambo oba mu buwandiike. This language is as different from the languages spoken by men ## Olulimi luno lwa njawulo okuva ku nnimi ezoogerwa abantu as their languages are different ## okufaanana ng’ennimi z'abantu b'ensi yonna from the cries of the birds and animals. ## bwe zaawukana ku kukaaba kw'ebinyonyi n’ebisolo. This is the language of prayer, ## Luno lwe lulimi lw'okusaba, when in our thoughts we speak to God ## bwe twogera ne Katonda and He answers us in our hearts and gives us guidance. ## era n’atuddamu mu mmeeme zaffe era n’atuwa n’okuluŋŋamizibwa. 116 Bahá'u'lláh said the spirit of man has feelings ## Bahá'u'lláh yagamba nti omwoyo gw'omuntu gulina ebirowoozo that cannot be put into words. ## ebitayinza kuteekeka mu bigambo. The tongue cannot express these feelings ## Olulimi teruyinza kunnyonnyola birowoozo bino nor the pen write them down. ## wadde n'akafumu okubiwandiika. The heart of a man who loves God ## Omutima gw'omuntu ayagala Katonda can speak with the heart of another man ## guyinza okwogera n'omutima gw'omuntu omulala in this language that has no words. ## mu lulimi luno olutalina bigambo. 117 'Abdu'l-Bahá told us how we can learn to speak to God. ## 'Abdu'l-Bahá, yatubuulira engeri gye tuyinza okuyigamu okwogera ne Katonda. He said we must turn our thoughts away from the world ## Yagamba nti tuteekwa okukyusa ebirowoozo byaffe okuva bintu by’ensi eno and from all men and think only of God. ## wamu n’abantu bonna era tulowooze ku Katonda yekka. This is not easy. Effort must be made. ## Kino si kyangu. Kaweefube ateekwa okukolebwa. A man must try to reach this state. ## Omuntu ateekwa okugezaako okutuuka mu mbeera eno. He can do this by not thinking of outside things and desiring them ## Ayinza okukola kino nga talowooza ku bintu eby'ebweru n’okubyegomba, but by thinking of inner things and desiring to draw near to God. ## wabula mu kulowooza ku bintu eby'omu nda era ne mu kwegomba okubeera okumpi ne Katonda. The eyes of a man's spirit must be open ## Amaaso g'omwoyo gw'omuntu gateekwa okuzibuka so that in all things he sees traces of the hands of God. ## bwatyo alyoke asobole okulaba obubonero bw’emikono gya Katonda mu bintu byonna. When a man does not turn his mind and heart upwards toward God, ## Omuntu bw'atakyusa mmeeme ye n’omutima gwe waggulu eri Katonda, he receives no light. ## tafuna kitangaala. On the contrary when he turns his heart and mind downwards ## Naye ate bw'akyusa omutima gwe n’emmeeme ye n’atunula wansi towards his own body he falls from his high place ## eri omubiri gwe agwa okuva mu kifo kye eky’ekitiibwa, and in his passions and acts becomes worse than an animal. ## era okwegomba kwe n’ebikolwa bye bifuuka bibi nnyo okukira eby'ensolo. 118 Bahá'u'lláh said, "Free yourselves; men, ## Bahá'u'lláh yagamba bwati: Abange mmwe abantu; from the slavery of your own passions and desires ## mwetakkuluze ku njegere z’okwagala okubi n'okwegomba kwammwe and attach your hearts to God. ## era munywereze emitima gyammwe ku Katonda. To pray to Him is to wash yourself of all defilement. ## Okwegayirira Katonda kwe kwenaazaako ebyonoono byammwe byonna. Repeat the words I have given to you ## Muddeemu ebigambo Nze bye mbawadde bwebityo, so that like a fine song they may move your heart ## okufaananako ng’oluyimba olulungi, bisobole okutengula emitima gyammwe and the hearts of other men and lift them to God. ## n’emitima gy'abantu abalala era n'okubiyimusa okutuuka eri Katonda. He who seeks to draw near to God ## Oyo anoonya okusemberera Katonda should at dawn of every day pray to Him with love in his heart ## kimugwanidde, buli lunaku ku matulutulu, okwegayiriranga Katonda n’okwagala mu mutima gwe until his prayer lifts him up from thoughts of this world. ## okutuusa essaala ye lw’emusitula okumujja ku birowoozo by'ensi eno. 119 'Abdu'l-Bahá taught that as God is high above everything He created, ## 'Abdu'l-Bahá yayigiriza nti kubanga Katonda ali waggulu w'ebintu byonna Ye bye yatonda, no man can see Him. ## tewali muntu yenna ayinza okumulaba. A cup cannot contain the waters of the sea. ## Ekikompe tekiyinza kujjuzibwamu mazzi gonna agali mu nnyanja. A man's mind cannot contain the picture Him Who created all things. ## Emmeme y'omuntu teyinza kujjuzibwamu kifaananyi ky'Oyo eyatonda ebintu byonna. Therefore to pray to God a man must turn his thoughts to the Messenger of God. ## Noolwekyo okwegayirira Katonda, omuntu ateekwa okukyusa ebirowoozo bye n’abizza eri Omubaka wa Katonda. God's Messenger is like the rays of the sun. ## Omubaka wa Katonda afaanana ng’omusana. The sun does not come down from sky to us. ## Enjuba teva waggulu mu bbanga n'ejja gye tuli ku nsi. Only the rays come to us ## Wabula omusana gwokka gwe gujja ku nsi and bring us the heat and the light of the sun. ## ne gatuleetera ebbugumu n'ekitangaala ky'enjuba. We know the the sun gives heat and light because of its rays. ## Tukimanyi nti enjuba y’etuwa ebbugumu n’ekitangaala olw’omusana ogugivaamu. We know the sun gives life to all things because of its rays. ## Tukimanyi nti enjuba y’ewa ebintu byonna obulamu. But the sun itself we dare not even look at directly ## Naye nno tetuyinza kwetantala kutunula butereevu mu njuba yo yennyini for if a man gazes into the sun he goes blind. ## kubanga omuntu singa atunula butereevu mu njuba, aziba amaaso. 120 When a man prays he must turn his heart to God's Messenger ## Omuntu bw'abeera yeegayirira ateekwa okukyusa omutima gwe n’agwolekeza eri Omubaka wa Katonda and address his prayer through Him. ## era n’awaayo okusaba kwe ng’ayita mu Ye. These Great Men are the Messengers between us and God. ## Abantu bano ab’Amaanyi be Babaka ababeerawo ng’olutindo wakati waffe ne Katonda. 121 Bahá'u'lláh commanded the Bahá’ís to pray. ## Bahá'u'lláh yalagira Ababahá’í okwegayiriranga. He said, "Recite the Words given to you from God every morning and evening. ## Yabagamba nti, "Buli ku makya n’akawungeezi, muddengamu ebigambo ebyabaweebwa okuva eri Katonda. The man who neglects this is unfaithful to his pact with God ## Omuntu alagajjalira kino tabeera mwesigwa eri endagano ye ne Katonda and is counted among those who turn away from Him. ## era abalirwa mu abo abakyuka ne bava ku Katonda. O my people, be afraid of God. ## Abange mmwe abantu, mutyenga Katonda. Do not let too much prayer and worship make you proud. ## Temukkirizanga okwegayirira n’okusinza ennyo okubafuula ab’amalala. If you recite one verse with a glad heart ## Singa oddamu olunyiriri lumu n’omutima omusanyufu, it is better for you than if ## kikubeerera kya mugaso nnyo okusinga you recite all the verses given you from God with carelessness. ## lw'onoddamu ennyiriri ezikuweereddwa Katonda nga tossizaayo mwoyo. Bahá'u'lláh taught that to praise God ## Bahá'u'lláh yayigiriza nti okugulumiza Katonda and call upon Him must refresh the heart of a man ## n'okumukowoola biteekwa okuzza amaanyi mu mutima gw'omuntu and make it like a bird that flies up towards the sky with joy. ## n'okugusobozesa okufuuka ng’ekinyonyi ekibuuka ne kitumbira mu bbanga nga kijjudde essanyu. Too much prayer for too long a time ## Okwegayirira okutwala ebbanga erisukkiridde obunene may cause fatigue and make the bird of the heart heavy ## kuyinza okuleetawo okukoowa ennyo era ne kuviiramu ekinyonyi ky’omutima gw'omuntu okuzitoowererwa and unable to fly. ## era ne kitayinza kubuuka. This is not the purpose of prayer ## Kino si ky’ekigendererwa ky’essaala which is to strengthen man and make him happy. ## kubanga essaala egendererwamu okunyweza omuntu era n’okumufuula ow’essanyu. Every man must pray. ## Buli muntu ateekwa okwegayirira. The only excuse for his not praying is ## Okuddirwamu kwokka ng’omuntu tawaddeeyo kiseera okwegayirira if his mind is ill or something which he cannot help prevents him. ## kwe kwokka ng’omuntu oyo mulwadde mu bwongo oba embeera yonna eteebeereka nga y’emuziyizza. &&& 122 Some men ask, "Why should we pray to God? Every thing in life is before us. We do not need to ask for anything." This is a wrong thought. A sick man asks the doctor for healing, a poor man asks the rich man for help, a weak man asks the strong man for protection. All men are poor and ill and weak before God. He is like their father. For His children to ask from Him is right. There are many prayers just as the children ask many things of their father. But 'Abdu'l-Bahá said the best prayer is the one in which the heart says to God: "I love You because You are my Creator." In this prayer we do not ask for healing or for protection or for wealth or for victory but only ask to give our hearts to God. When we learn to pray this way we know no fear of death and we find a joy that lasts forever. Abantu abamu babuuza nti, "Lwaki twegayirira Katonda? Buli kintu kyonna kye twetaaga mu bulamu tukirina. Tetwetaaga kusaba tusobole okufua kintu kyonna." Endowooza eno nkyamu. Omuntu omulwadde asaba omusawo okujjanjabwa awone, omuntu omwavu asaba obuyambi ==43 okuva eri omuntu omugagga, n'omuntu omunafu asaba obukuumi okuva ew’omuntu alina amaanyi. Mu maaso ga Katonda, abantu bonna baavu, balwadde era banafu. Katonda abeera nga Kitaabwe. Kibeera kituufu abaana Be okumusaba Ye. Waliwo essaala nnyingi ezisabwibwa, okufaanana ng'abaana bwe babeera n'ebintu ebingi bye basaba Kitaabwe. Naye 'Abdu'l-Bahá yagamba nti essaala esingira ddala obulungi y’eyo omutima gw'omuntu mwe gugambira Katonda nti: "Nkwagala kubanga Ggwe Mutonzi wange." Mu ssaala eno tetusaba kuwonyezebwa oba kukuumibwa oba bugagga oba buwanguzi, wabula twegayirira tuweeyo emitima gyaffe eri Katonda. Bwe tuyiga okwegayirira mu ngeri eno, okufa kubeera tekukyatutiisa era tufuna essanyu eribeera mu ffe emirembe n’emirembe. 123 As men gather together to discuss the affairs of their village, ## Abantu bwe bakuŋŋaana okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku kyalo kyabwe, to comfort each other in times of danger, ## oba okugumyaŋŋana mu biseera eby'akabi, or to counsel each other on their work, ## oba okwebuulirira ku bikwata ku mirimu gyabwe, so it is also good for them to gather together ## bwekityo kibeera kirungi abantu okukuŋŋaana and pray to God for Him to help them and guide them. ## ne beegayirira Katonda okubayamba n’okubaluŋŋamya. There is great strength in things men do together ## Waberawo amaanyi mangi mu bintu abantu bye bakolera awamu and when they pray together ## era bwe basabira awamu, there is great strength given to them. ## amaanyi mangi agabaweebwa. 124 When men turn away from God ## Abantu bwe bakyuka ne bava ku Katonda, they wander into evil ways and bring suffering upon themselves. ## babungeetera mu makubo ag’ebibi era ne beereetera okubonaabona. When they disobey the words of God's Messenger ## Bwe bajeemera ebigambo by’Omubaka wa Katonda, they are punished for their wrong-doing. ## babonerezebwa olw'ebikolwa byabwe ebibi. Therefore they must ask forgiveness of God in their prayers ## Noolwekyo, bwe babeera nga beegayirira mu ssaala zaabwe, and ask Him to lead them into the right path. ## bateekwa okusaba Katonda abasonyiwe era n’okumusaba abakulembere mu kkubo ettuufu. A good man is grieved when he sees ## Omuntu omulungi yennyamira bw'alaba the people of his village busy in wrong-doing. ## abantu ab’oku kyalo kye nga beemalidde mu kukola kwonoona. He does all he can to bring them back from their evil ways ## Akola kyonna ky’asobola okubasikula mu mbeera zaabwe ez’okwonoona and to protect them from suffering. ## era n’okubalabirira baleme okubonaabona. He even places himself in danger, ## Ayinza n'okweteeka mu kabi, gives his wealth, even his life, to help and save them ## okuwaayo obugagga bwe, sinakindi n'obulamu bwe bwenyini, ng’agezaako okuyamba n'okubawonya from the punishment of their unwise acts and evil ways. ## baleme kubonerezabwa olw'ebikolwa byabwe eby’obutaliimu n’embeera zaabwe ez’ebibi. The Holy Men and the Prophets sacrifice Themselves for other men ## Abantu Abatuukirivu ne Bannabbi bayinza okusaddaaka obulamu Bwabwe ku lw'abantu abalala even to the point of death, ## kumpi kutuuka kuttibwa, as Jesus Christ died in order to save men from their evil ways. ## nga Yesu Kristo bwe Yafa asobole okulokola abantu mu bibi byabwe. This is the highest example we know in this world, ## Kino ky'ekyokulabirako ekisingira ddala obukulu kye tumanyi mu nsi yonna, when a man to do good to other men will give his life. ## omuntu okuwaayo obulamu bwe ku lw'obulungi bw'abalala. In the land of Iran over twenty thousand Bábis and Bahá’ís ## Mu nsi Iran, Ababábí n’Ababahá'í abasukka mu mitwalo ebibi, were put to death, men, women and children, ## nga mu bano mwalimu abasajja, abakazi n'abaana, battibwa because they would not deny the Báb and Bahá'u'lláh, ## kubanga tebakkiriza kwegaana Báb ne Bahá'u'lláh, because they believed Their words were the Words of God for this day ## kubanga bakkiriza nti ebigambo Byabwe by'Ebigambo bya Katonda eby'olunaku luno, and would bring peace and happiness to all men. ## era nti bye byali bijja okuleeta emirembe n’essanyu eri abantu bonna. 125 But some men are full of doubts. ## Naye abantu abamu bajjudde okubuusabuusa. They say the world is full of strange things, illness and floods, ## Bagamba nti ensi ejjudde ebintu eby'ewuunyisa, endwadde n’amataba, great storms and winds, famine, war and death. ## emiyaga n’empewo ez’amaanyi, enjala, entalo n'okufa. Of what use is it for a man to pray to God for help? ## Kigasa ki omuntu okwegayirira Katonda okumuwa obuyambi? There are two answers to this question. ## Ekibuuzo kino kiyinza okuddibwamu mu ngeri ya mirundi ebiri. First, men grow strong by suffering. ## Ekisooka, abantu bafuuka b’amaanyi nga bayita mu kubonaabona. How is a man to be known if he cannot endure pain and trial. ## Omuntu ayinza kumanyibwa atya singa tayinza kugumira kubonaabona na kugezesebwa? Which is better, a blade of grass or a mighty tree ## Kiki ekisinga ku kinnaakyo; ekikoola ky’omuddo oba omuti ogw'amaanyi that has passed through a hundred storms ## oguyise mu miyaga egy’emirundi ekikumi and still stands and bears fruits. ## naye ne gusigala nga gukyabala ebibala? A man who can endure no suffering or sorrow is no man at all. ## Omuntu atasobola kugumira kubonaabona oba ennyiike si muntu n'akamu. Suffering and sorrow teach him ## Okubonaabona n’ennyiike bimuyigiriza, and toughen him and make him a man. ## bimugumu era bimufuula omuntu. We see therefore that part of life ## Noolwekyo tukiraba nti ekitundu ku bulamu is the training these sufferings give to our spirits. ## kwe kutendeka okubonaabona kuno kwe kuwa emyoyo gyaffe. They are necessary for us. ## Twetaaga nnyo okutendekebwa kuno. Secondly, there is a strength greater than we understand in prayer. ## Ekyokubiri, waliwo amaanyi agenjawulo mu kwegayirira okusinga ffe bwe tukitegeera. Let us take an example. ## Ka tukozese ekyokulabirako kino. A man wishes to move a very heavy stone. ## Omuntu ayagala okusiguukulula oguyinja ogunene ennyo. He pushes it but alone he cannot move it. ## Agusindika naye kubanga ali yekka, tasobola kugusiguukulula. It takes ten men or more to push it from its place. ## Kyetaagisa abantu kkumi oba n’okusingawo okusiguukulula oguyinja guno okuva mu kifo we guli. But the man is alone and he wishes to move the stone. ## Naye omusajja ali bw'omu ate ng'ayagala okusiguukulula ejjinja lino. So he takes a long pole and he puts the point of it under the stone. ## Bwatyo nno afunayo empagi empanvu n’ateeka ensongezo yaayo wansi w’oguyinja. A little away from the stone he puts a piece of stone or wood under the pole ## Akabanga katono okuva ku guyinja, afunayo ekiti oba ejjinja n’aliteeka wansi w’empagi, and now all alone he can move the big stone from its place. ## era kaakano asobola okusiguukulula oguyinja guno okuva mu kifo kyagwo. This is like prayer. ## Kino kifaanana ng'okusaba. The pole helps the man move the stone. ## Empagi eyamba omuntu ono okusiguukulula oguyinja. The prayer to God helps the man overcome his difficulty ## Okwegayirira Katonda kuyamba omuntu okuvvuunuka obuzibu bwe for the power of God comes in answer to his call. ## kubanga obuyinza bwa Katonda buduukirira okukowoola kwe. 126 The Báb and Bahá'u'lláh and 'Abdu'l-Bahá gave us ## Báb, Bahá'u'lláh ne 'Abdu'l-Bahá baatuwadde many beautiful prayers for men to say and women to say and children to say, ## essaala nnyingi ennungi abasajja, abakazi n'abaana baziddengamu, prayers of thanksgiving to God and prayers for healing, ## nga zino ssaala za kwebaza Katonda, essala ez’okuwonyezebwa, for protection and for guidance. ## obukuumi wamu n’okuluŋŋamizibwa. The Bahá’ís having a great treasury of these words. ## Ababahá’í balina ekittavvu ky’essaala zino eky’amaanyi. Bahá'u'lláh commanded His followers to say at least one prayer a day ## Bahá'u'lláh yalagira abagoberezi Be okuddangamu waakiri essaala emu buli lunaku, and He wrote three prayers for them to choose from, ## era yawandiika essaala ssatu kwe bayinza okweroboza, a very long one, a medium one and a short one. ## empanvu, ensaamusaamu n’ennyimpi. 127 These are the words of the short one: ## Bino by'ebigambo eby'eyo ennyimpi: I bear witness, O my God, ## Mpa obujulirwa, Ayi Katonda wange, that Thou hast created me to know Thee and to worship Thee. ## nti Ggwe ontonze nze okukumanya Ggwe n’okukusinza Ggwe. I testify, at this moment, to my powerlessness and to Thy might, ## Mu kiseera kino, nkakasa obuteesobola bwange ku maanyi Go, to my poverty and to Thy wealth. ## obwavu bwange ku bugagga Bwo. There is none other God but Thee, the Help in Peril, the Self-Subsisting. ## Teri Katonda mulala wabula Ggwe, Omuyambi mu Kabi, Eyeebeezaawo-Yekka. 128 Another prayer of Bahá'u'lláh says: # Essaala ya Bahá’u’lláh endala egamba bweti: 129 "O my God! O my God! Unite the hearts of Thy servants, ## Ayi Katonda wange! Ayi Katonda wange! Ogatte emitima gy'abaddu Bo, and reveal to them Thy great purpose. ## era obabikkulire ekigendererwa Kyo ekikulu. May they follow Thy commandments and abide in Thy law. ## Tubasabira basobole okugoberera ebiragiro Byo wamu n’okunywerera ku tteeka Lyo. Help them, O God, in their endeavor, ## Obayambe, Ayi Katonda, mu kulafuubana kwabwe and grant them strength to serve Thee. ## era obawe amaanyi okukuweereza Ggwe. O God! Leave them not to themselves, ## Ayi Katonda! Oleme okubalekerera, but guide their steps by the light of knowledge, ## wabula oluŋŋamye ebigere byabwe n’ekitangaala eky’okumanya, and cheer their hearts by Thy love. ## era ozzeemu amaanyi emitima gyabwe n'okwagala Kwo. Verily, Thou art their Helper and their Lord." ## Ddaladdala, Ggwe Muyambi waabwe era Mukama waabwe. 130 A prayer of 'Abdu'l-Bahá says: ## Essaala ya 'Abdu'l-Bahá egamba bweti: 131 "O Thou kind Lord! ## Ayi Ggwe Mukama oweekisa! Thou hast created all humanity from the same original parents. ## Ggwe otonze abantu bonna okuva mu bazadde be bamu abaasooka. Thou hast intended that all belong to the same household. ## Ggwe wagenderera nti bonna baeere mu nju emu. In Thy Holy Presence they are Thy servants ## Mu Kubeerawo Kwo Okutukuvu bonna baddu bo, and all mankind are sheltered beneath Thy Tabernacle. ## era abantu bonna babudamizibwa wansi wa Weema Yo. All have gathered at Thy table of bounty and are radiant through the light of Thy providence. ## Bonna bakuŋŋaanidde ku Mmeeza Yo ey'emikisa, era basanyufu olw’ekitangaala ky’Obugabirizi Bwo. O God! Thou art kind to all, Thou hast provided for all, ## Ayi Katonda! Ggwe oli wa kisa eri bonna, Ggwe ogabirira bonna, Thou does shelter all, Thou dost confer life upon all. ## Ggwe buddukiro bwabwe bonna, Ggwe obawa bonna obulamu. Thou hast endowed all with talents and faculties; ## Ggwe owadde bonna talanta n’obusobozi bwonna, all are submerged in the ocean of Thy mercy. ## bonna bennyise mu ssemayanja w’Okusaasira Kwo. O Thou kind Lord! unite all, ## Ayi Ggwe Mukama oweekisa! Ogatte wamu bonna. let the religions agree, ## Okkirize ediini zonna okukkiriziganya make the nations one so that they may be as one kind ## era n’amawanga gonna ogafuule eggwanga limu bwegatyo gasobole okubeera ng’ab’olulyo olumu and as children of the same fatherland. ## era n’ensi yonna ng’amaka agali awamu. May they associate in unity and concord. ## Okkirize amawanga gonna okukolaganira awamu mu kwegatta n’okukkaanya. O God! upraise the standard of the oneness of humankind. ## Ayi Katonda! Owanike embeera y’obumu obw'abantu bonna. O God! establish the Most Great Peace. ## Ayi Katonda! Oteekewo Emirembe Egisingira ddala Obulungi. Cement the hearts together, O God! ## Onyweze Ggwe wamu emitima, Ayi Katonda! O Thou kind Father, God! ## Ayi Ggwe Kitaffe oweekisa, Katonda! exhilarate the hearts through the fragrance of Thy love; ## Okyamuse emitima n’akaloosa ak’okwagala Kwo; brighten the eyes through the light Of Thy guidance; ## osanyuse amaaso gaffe n’ekitangaala eky’okuluŋŋamizibwa Kwo. cheer the hearing with the melodies of Thy Word ## Okyamuse amatu gaffe n’ennyimba ennyuunyuutuvu ez’Ekigambo Kyo, and shelter us in the cave of Thy providence. ## era otubudamye mu mpuku ey'Obugabirizi Bwo. Thou art the Mighty and Powerful! ## Ggwe ow’Obuyinza era ow’Amaanyi. Thou art the Forgiving ## Ggwe Oyo Asonyiwa and Thou art the One Who overlookest the shortcomings of humankind. ## era abikkirira ensobi z'abantu bonna. 132 Another prayer of 'Abdu'l-Bahá says: ## Essaala ya 'Abdu'l-Bahá endala egamba bweti: 133 O Thou Almighty! I am a sinner, but Thou art the Forgiver! ## Ayi Ggwe Omuyinza wa byonna! Ndi mwonoonyi naye Ggwe Oyo Asonyiwa! I am full of shortcomings, but Thou art the Compassionate! ## Nzijudde ebibi, naye Ggwe Oyo Omusaasizi! I am in the darkness of error, but Thou art the Light Of Pardon! ## Ndi mukizikiza eky’okubula, wabula Ggwe oli Kitangaala eky'Okusonyiwa! O Thou benevolent God! Forgive my sins, ## Ayi Ggwe, Katonda Omuyambi! Osonyiwe ebyonoono byange, grant me Thy gifts, overlook my faults, ## ompe ebirabo Byo, oleme okutunuulira ebisobyo byange, shelter me and immerse me in the fountain of Thy patience ## ombudabye era onnyinyike mu nsulo y'obugumiikiriza Bwo and heal me of all sickness and disease. ## era omponye obuyinike n’endwadde zonna. Purify and sanctify me ## Onnongoose, ontukuze and give me a portion from the outpouring of holiness, ## era ompe omugabo okuva mu nsulo ez'obutuukirivu, so that sorrow and sadness may vanish, ## bwekityo ennyiike n’okunakuwala biryoke biviirewo ddala, and joy and happiness descend. ## era okwesiima n’essanyu biryoke bike gye tuli. Let despondence and hopelessness be changed into cheerfulness and trust, ## Okkirize obweraliikirivu n’okuggwamu essuubi bikyusibwe bifuuke okusanyusibwa n’obwesige, and grant that courage may take the place of fear. ## era okkirize obuvumu budde mu kifo ky'okutya. Verily, Thou art the Forgiver, the Compassionate, ## Ddaladdala Gwe Oyo Asonyiwa, Omusaasizi, and Thou art the Generous and Beloved. ## Ggwe Oyo Omugabi era Omwagalwa.