Back to Virtue Index

Ssaddaaka (Sacrifice)

Ssaddaaka kwe kubeera omwetegefu okuwaayo eky’omuwendo olw’ekintu ekisingako omugaso.
Pattern
( Sacrifice is the willingness to give up something important for something more important.)

Kiteegeza “okufuula ekintu okuba ekitukuvu”
Pattern
( It means “Make sacred”)

Bwe tusaddaakira abo betufaako, tekuba kufiirwa wabula okuwaayo okw’omukwano.
Pattern
( When we sacrifice for those we care about, it is not a deprivation but a love offering.)

Okusaddaaka obudde bwaffe, ebintu byaffe ebikalu, essanyu lyaffe ery’obuntu wamu n’obugagga bwaffe eri ekintu kye tufaako tuddizibwa emirundi kikumi.
Pattern
( Sacrificing our time, our possessions, our personal comfort and our resources for something we care about gives back to us a hundred fold.)

Kigwana buli ttondo ly’entuuyo, era na buli kiwundu kye tufuna.
Pattern
( It is worth every drop of sweat, and every wound we receive.)

Kiva mu kuwaayo byonna bye tulina olw’ekigendererwa ekisaanidde olwo ne tulyoka tufuna enkulakulana eya namaddala.
Pattern
( It is in giving our all for a worthy purpose that we receive genuine prosperity.)

====

“Tweetaaga abantu abayinza obwerekereza ebyaabwe byonna na buli kintu okulaba nga wabeerawo enkyuukakyuuka.”
Pattern
( "We need people who will dare to risk anything and everything to see things different.”)
SHUSHOBHA BARVE

Empisa ya Ssaddaaka
Pattern
( The Practice of Sacrifice)

Ntegeera okwegomba kwange okw’amazima.
Pattern
( I discern my true passion.)

Mpaayo okwagala kwange kwonna.
Pattern
( I offer my love wholeheartedly.)

Mpaayo ekyo kyonna kye nsobola.
Pattern
( I give whatever I can.)

Nsiga ensigo zange zonna mu kigendererwa ky’omubulamu bwange.
Pattern
( I invest completely in my life’s purpose.)

Nzikiriza okufiirizibwa awamu n’ebirabo.
Pattern
(I accept the losses along with the gifts.)

Ndi mumalirivu ku lw’omuwendo gw’ebirubirirwa byange.
Pattern
( I am committed to the value of my dreams.)

Neebaza ku lw’ekirabo kya Ssaddaaka. Kitukuzza obulamu bwange.
Pattern
( I am thankful for the gift of Sacrifice. It makes my life sacred.)

Back to Virtue Index