Back to Level 3 Index

Lesson 60 – Subjunctives with object of infix

GITEEKE (Put it)
Giteeke ku meeza. (on the table.)
Giteeke mu nsawo yo. (in your pocket.)
Giteeke mu sanduuko. (in the suitcase.)
Giteeke wano. (here.)
Giteeke awo. (there.)
Giteeke wali. (over there. [at a distance])

Ekkalaamu yange ngiteeke wa? Giteeke wali. (Where shall I put my pen? Put it over there.)
Ebitabo byaffe tubiteeke wa? Mubiteeke wali. (Where shall we put our books? Put them over there.)
Olupapula lwange nduteeke wa? Luteeke ku meeza. (Where shall I put my paper? Put it on the table. )
Ensimbi zaffe tuziteeke wa? Muziteeke mu sanduuko. (Where shall we put our money? Put it in the suitcase.)

Ekkalaamu ngiteeke ku meeza? Nedda, giteeka ku ntebe. (Shall I put the pen on the table? No, put it on the chair.)
Ekkalaamu tuziteeke ku meeza? Nedda, muziteeke ku ntebe. (Shall we put the pens on the table? No, Put them on the chairs.)
Tugende ku lubaawo? Nedda, mugende ebweru. (Shall we go to the board? No, go outside.)
Nsangule olubaawo? Nedda, luleke. (Shall I erase the board? No, leave it as it is.)