Back to Level 3 Index

Lesson 58 – The Town of Jinja

Jinja kye kibuga ekikulu mu Busoga.
(Jinja is the principal town in Busoga.)
Busoga ye nsi emu mu Uganda eri mu bukiika bw'ebuvanjuba.
(Busoga is a region in the eastern part of Uganda.)
Abantu abasinga obungi mu Busoga Basoga era n'ekibuga Jinja abantu abasinga obungi Basoga, naye mulimu abantu bangi ab'amawanga amalala abava mu Uganda ne mu nsi endala.
(The majority of the people are Basoga but there are many of other tribes and countries.)
Abantu abamu mu Busoga balimi naye abantu b'omu kibuga Jinja abasinga obungi bakola mu ofiisi ez'ebitongole eby'enjawulo; ng'obulimi, obuzimbi n'ekitongole ky'ebyenjigiriza.
(Some Basoga are farmers but the majority of people work in offices of various departments; such as agriculture, housing and that of education.)