Back to Level 3 Index

Lesson 55 – Object infixes with the present tense

Ogiteeka ku meeza. (You put it on the table.)
Ogiteeka mu nsawo. (You put it in the bag.)
Ogiteeka mu ssanduuko. (You put it in the box.)
Ogiteeka kumpi n'ekitabo. (You put it near the book.)
Togiteeka wansi. (You don't put it on the floor.)
Engatto zange nziteeka wa? (Where do I put my shoes?)

Omuwana wange omulabyeko? Wuuno. / Simulaba. (Have you seen my child? He/she’s here. / I don’t see him/her.)
Abaana bange obalabyeko? Baabano. / Sibalaba. (Have you seen my children? They are here. / I don’t see them.)
Omuggo gwange ogulabyeko? Guuguno. / Sigulaba. (Have you seen my walking stick? It is here. / I don’t see it.)
Emiggo gyange ogirabyeko? Giigino. / Sigiraba. (Have you seen my walking sticks? They are here. I don’t see them.)

Ekitabo kyange okirabyeko? Kiikino.
Ebitabo byange obirabyeko? Biibino.
Essaawa yange ogirabyeko? Yiino.
Engatto zange ozirabyeko? Ziizino.
Eggi lyange olirabyeko? Liirino.
Amagi gange ogalabyeko? Gaagano.
Olugoye lwange olulabyeko? Luuluno.
Engoye zange ozirabyeko? Ziizino.
Akagaali kange okalabyeko? Kaakano.
Obugaali bwange obulabyeko? Buubuno.